Ku ntandikwa, Katonda yatonda eggulu n'ensi. Ensi yali mu mbeera eyeetabuddetabudde, era nga njereere. Ekizikiza kyali kibuutikidde oguyanja, n'omwoyo gwa Katonda gwali gwetawulira ku mazzi. Awo Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala, Katonda n'alaba ng'ekitangaala kirungi. N'ayawula ekitangaala ku kizikiza. Ekitangaala n'akiyita “Emisana,” ate ekizikiza n'akiyita “Ekiro.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olubereberye. Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebbanga wakati w'amazzi, ligaawulemu.” N'ateekawo ebbanga, n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga, n'agali waggulu waalyo. Ne kiba bwe kityo. Ebbanga n'aliyita “Eggulu.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokubiri. Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu, gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo. Olukalu n'aluyita “Ensi,” ate ekkuŋŋaaniro ly'amazzi, n'aliyita “Ennyanja.” Katonda n'alaba nga birungi. Era n'agamba nti: “Ensi emere ebimera ebya buli ngeri, ebeeremu omuddo ogubala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebirimu ensigo, ng'ebika byabyo bwe biri.” Ne kiba bwe kityo. Awo ensi n'emera ebimera ebya buli ngeri: omuddo ogubala ensigo, ng'ebika byagwo bwe biri, ne miti egy'ebibala bwe gityo. Katonda n'alaba nga birungi. Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokusatu. Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era biragenga ebiseera by'obudde, n'ennaku, n'emyaka, byakirenga mu bbanga ery'eggulu, bimulise ensi.” Ne kiba bwe kityo. Awo Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene, ekisinga obunene kifugenga emisana, ate ekitono kifugenga ekiro, era n'akola n'emmunyeenye. Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu, bimulisenga ensi, bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga ekitangaala n'ekizikiza. Katonda n'alaba nga birungi. Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokuna. Katonda n'agamba nti: “Ekkuŋŋaaniro ly'amazzi lijjulemu ebiramu ebyewalula, n'ensi ebeeremu ebiramu ebibuuka mu bbanga.” Katonda n'atonda agasolo aganene ag'omu nnyanja, n'ebitonde byonna ebya buli ngeri ebibeera mu mazzi, n'ebibuuka mu bbanga. Katonda n'alaba nga birungi. N'abiwa omukisa, n'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ennyanja. N'ebibuuka mu bbanga byale mu nsi.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokutaano. Katonda n'agamba nti: “Ensi esibukemu ebiramu ebya buli ngeri, ensolo ezifugibwa, n'ez'omu ttale, ennene n'entono, n'ebyewalula.” Ne kiba bwe kityo. Katonda n'akola ebyo byonna, era n'alaba nga birungi. Katonda n'agamba nti: “Tukole abantu abali nga ffe, nga batufaanana, bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka mu bbanga, n'ebyewalula ku ttaka, n'ensolo era n'ensi yonna.” Awo Katonda n'atonda abantu abali nga ye, n'abatonda nga bamufaanana. Yabatonda omusajja n'omukazi, n'abawa omukisa, ng'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ensi, mugifuge. Mulabirirenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka mu bbanga n'ebiramu byonna ebyetawulira ku nsi.” Katonda n'agamba nti: “Mbawadde ebimera byonna ebiri ku nsi, ebibala ensigo, era n'emiti gyonna egibala, bibeerenga emmere yammwe. Ensolo zonna n'ennyonyi nziwadde omuddo n'amakoola, bibeerenga emmere yaabyo.” Ne kiba bwe kityo. Katonda n'atunula ku buli ky'akoze, n'alaba nga kirungi nnyo. Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olw'omukaaga. Bwe bityo eggulu n'ensi, n'ebibirimu byonna, ne biggwa okukola. Ku lunaku olw'omusanvu, Katonda n'amala emirimu gye gyonna gye yakola, n'awummula ku lunaku olwo olw'omusanvu. N'awa omukisa olunaku olw'omusanvu, n'alutukuza, kubanga ku lunaku olwo, kwe yamalira okutonda, n'alekera awo okukola. Bwe bityo eby'omu ggulu n'eby'oku nsi bwe byatondebwa. Mukama Katonda lwe yakola ensi n'eggulu, waali tewannabaawo miti wadde ebimera ebirala ku nsi, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesaako nkuba, era nga tewali muntu alima ensi. Naye amazzi gaavanga mu ttaka, ne gannyikiza ensi. Awo Mukama Katonda n'abumba omuntu mu nfuufu y'ettaka, n'amufuuwa mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'atandika okuba omulamu. Awo Mukama Katonda n'asimba ennimiro mu Edeni, ku ludda olw'ebuvanjuba, n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba. N'ameza omwo buli muti ogusanyusa okulaba, era ogubala ebibala ebiwooma. Mu nnimiro wakati mwalimu omuti oguleeta obulamu, n'omuti oguleeta okumanya ekirungi n'ekibi. Omugga ne gusibuka mu Edeni okufukiriranga ennimiro, ne gweyawulamu, ne gufuuka emigga ena. Ogusooka, erinnya lyagwo Pisoni. Ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Havila, erimu zaabu. Ddala ensi eyo erimu zaabu omulungi, n'ebyakawoowo ebitasangikasangika, era n'amayinja ag'omuwendo! Erinnya ly'omugga ogwokubiri, Giboni. Ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kuusi. Omugga ogwokusatu ye Tigiriisi, oguyita ebuvanjuba bwa Assiriya. N'omugga ogwokuna ye Ewufuraate. Awo Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu nnimiro ey'e Edeni agirimenga, era agirabirirenga. N'amugamba nti: “Buli muti ogw'omu nnimiro, olyangako nga bw'onooyagalanga. Naye omuti oguleeta okumanya ekirungi n'ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw'oligulyako, tolirema kufa.” Awo Mukama Katonda n'agamba nti: “Si kirungi omuntu okubeera yekka. Nja kumukolera omubeezi amusaanira.” Mukama Katonda kyeyava addira ettaka n'akolamu ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga, n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita, era buli kiramu, erinnya lye yakiyita, lye lyaba erinnya lyakyo. Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye nga tannazuula mubeezi amusaanira. Awo Mukama Katonda ne yeebasa omusajja otulo tungi. N'amuggyamu olubiriizi lumu, n'ajjuzaamu ennyama mu kifo kyalwo. Olubiriizi olwo lw'aggye mu musajja, n'alukolamu omukazi, n'amumuleetera. Omusajja n'agamba nti: “Ddala ono ye muntu munnange, lye ggumba erivudde mu magumba gange, gwe mubiri oguvudde mu mubiri gwange. Anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja. ” Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we, ne baba omuntu omu. Omusajja ne mukazi we bombiriri baali bwereere, naye tebaakwatibwa nsonyi. Omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu ttale, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gubuuza omukazi nti: “Ddala Katonda yagamba nti: ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu nnimiro?’ ” Omukazi n'agamba omusota nti: “Tuyinza okulya ku bibala by'emiti egy'omu nnimiro, okuggyako ebibala by'omuti oguli wakati mu nnimiro. Katonda yagamba nti: ‘Temulyanga ku muti ogwo, wadde okugukwatako. Bwe mulikikola, mugenda kufa.’ ” Omusota ne gugamba omukazi nti: “Nedda, temugenda kufa. Katonda yayogera bw'atyo, kubanga amanyi nga bwe muligulyako, amaaso gammwe gagenda kuzibuka, mube nga Katonda, mumanye ekirungi n'ekibi.” Omukazi n'alaba ng'ebibala by'omuti birungi okulya, era nga nagwo gwennyini gusanyusa amaaso. N'agwegomba, kubanga guleeta amagezi. Kyeyava anoga ku bibala byagwo, n'alya. N'awaako ne bba, naye n'alya. Olwo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nti bali bwereere. Ne batunga amakoola g'emiti, ne beekolera ebyokwambala. Olwegguloggulo, ne bawulira Mukama Katonda ng'atambula mu nnimiro, ne beekweka mu miti egy'omu nnimiro, aleme okubalaba. Mukama Katonda n'akoowoola omusajja nti: “Oli ludda wa?” Omusajja n'addamu nti: “Nkuwulidde mu nnimiro, ne ntya, ne nneekweka, kubanga ndi bwereere.” Katonda n'amubuuza nti: “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti, gwe nakugaana okulyako?” Omusajja n'addamu nti: “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku kibala ne ndya.” Mukama Katonda n'abuuza omukazi nti: “Lwaki okoze kino?” Omukazi n'addamu nti: “Omusota gwe gwannimbyerimbye, ne ndya.” Awo Mukama Katonda n'agamba omusota nti: “Nga bw'okoze kino, okolimiddwa mu nsolo zonna enfuge n'ez'omu ttale. Oneekululiranga ku lubuto lwo, era onoolyanga nfuufu obulamu bwo bwonna. Nnaakukyawaganyanga n'omukazi, era nnaakyawaganyanga ezzadde lye n'eriryo. Ezzadde ly'omukazi lirikubetenta omutwe, ate ggwe oliribojja ekisinziiro.” N'agamba omukazi nti: “Nnaakwongerangako obulumi ng'oli lubuto. Mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana. Kyokka newaakubadde nga kiri bwe kityo, oneegombanga balo, era ye anaakufuganga.” N'agamba omusajja nti: “Nga bwe wawulirizza mukazi wo, n'olya ekibala kye nakugamba nti tokiryangako, ensi ekolimiddwa olw'okubeera ggwe. Onootegananga okufuna ebyokulya obulamu bwo bwonna. Ensi eneekumerezanga omuddo n'amaggwa, era onoolyanga omuddo ogw'omu ttale. Onookolanga nnyo n'otuuyana okufuna emmere gy'olya, okutuusa lw'olidda mu ttaka mwe waggyibwa, kubanga ggwe oli nfuufu, era mu nfuufu mw'olidda.” Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya Haawa, kubanga ye nnyina w'abalamu bonna. Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby'amaliba, n'abambaza. Mukama Katonda n'agamba nti: “Omuntu afuuse ng'omu ku ffe, ng'amanyi ekirungi n'ekibi. Kaakano tajja kulekebwa kunoga kibala ku muti ogw'obulamu na kukirya okuwangaala emirembe n'emirembe.” Mukama Katonda kyeyava agoba omuntu mu nnimiro y'e Edeni, alimenga ettaka mwe yaggyibwa. Ebuvanjuba w'ennimiro y'e Edeni, Katonda n'ateekayo bakerubi n'ekitala ekimyansa, ekikyukira ku njuyi zonna, okukuumanga ekkubo eriraga ku muti gw'obulamu. Awo Adamu ne yeegatta ne Haawa mukazi we, Haawa n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, era n'agamba nti: “Mukama annyambye ne nzaala omwana ow'obulenzi.” N'amutuuma erinnya Kayini. Oluvannyuma n'azzaako omwana omulala ow'obulenzi, Abeeli. Abeeli oyo n'aba mulunzi wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi. Bwe waayitawo ekiseera, Kayini n'aleeta ku bibala bye yalima, okubiwaayo eri Katonda. Abeeli naye n'aleeta ku ndiga ze, ezaasookanga okuzaalibwa, n'azitta, n'awaayo ebitundu ebisinga obusava. Mukama n'asiima Abeeli ne ky'awaddeyo, naye n'atasiima Kayini ne ky'awaddeyo. Kayini n'asunguwala nnyo, era n'atunula bubi. Mukama n'agamba Kayini nti: “Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikutunuza obubi? Singa okola ekirungi, tewandisiimiddwa? Naye bw'okola ekibi, ekibi kibeera ku luggi lwo. Kyagala okukufuga, naye ggwe oteekwa okukiwangula.” Kayini n'agamba Abeeli muganda we nti: “Tugende mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini ne yeefuulira muganda we, n'amutta. Mukama n'abuuza Kayini nti: “Muganda wo Abeeli aluwa?” Kayini n'addamu nti: “Nze nkuuma muganda wange?” Mukama n'agamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka. Kale kaakano okolimiddwa ku ttaka eryasamye, ne limira omusaayi gwa muganda wo gw'osse. Okuva kati, bw'onoolimanga ettaka, teriikubalizenga bibala mu bugimu bwalyo. Onoobanga mmomboze era mubungeese mu nsi.” Kayini n'agamba Mukama nti: “Ekibonerezo ky'ompadde, kisukkiridde ku kye nnyinza okugumira. Ettaka olinzigyeko, era ongobye mu maaso go, nfuuse mmomboze era mubungeese mu nsi, era buli andaba, alinzita bussi!” Mukama n'amugamba nti: “Nedda. Buli alitta Kayini, aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Awo Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero, buli amulaba aleme okumutta. Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'abeera mu nsi eyitibwa “Nodi,” mu buvanjuba bwa Edeni. Awo Kayini ne yeegatta ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala Enoka. Kayini n'azimba ekibuga, n'akituuma erinnya ly'omwana we Enoka. Enoka n'azaala Yiradi, Yiradi n'azaala Mehuyayeli, Mehuyayeli n'azaala Metusayeli, Metusayeli n'azaala Lameka. Lameka n'awasa abakazi babiri, omu ye Ada, omulala ye Ziila. Ada n'azaala Yabali, jjajja w'abalunzi abasula mu weema. Muganda we ye Yubali, jjajja w'abo bonna abakuba ennanga, n'abafuuwa endere. Ziila n'azaala Tubalu Kayini, omuweesi w'ebikozesebwa byonna eby'ekikomo n'eby'ekyuma. Mwannyina Tubalu Kayini, ye Naama. Lameka n'agamba bakazi be nti: “Bakazi bange mwenna Ada ne Ziila, muwulire kye ŋŋamba. Natta omusajja eyanfumita, era omuvubuka eyankuba. Oba nga Kayini aliwoolerwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka aliwoolerwa emirundi nsanvu mu musanvu.” Adamu ne yeegatta ne mukazi we nate, mukazi we n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seeti, ng'agamba nti: “Katonda ampadde omwana omulala okudda mu kifo kya Abeeli, Kayini gwe yatta.” Seeti naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Enosi. Mu biro ebyo, abantu we baasookera okusinzanga Mukama. Luno lwe lukalala lw'abazzukulu ba Adamu. Katonda bwe yatonda abantu, yabatonda ne bamufaanana. Yatonda omusajja n'omukazi, n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya nti “Bantu.” Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi, amufaananira ddala, n'amutuuma erinnya Seeti. Adamu yawangaala emyaka emirala lunaana ng'amaze okuzaala Seeti. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu asatu. Seeti bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano, n'azaala Enosi. Seeti n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri. Enosi bwe yaweza emyaka kyenda, n'azaala Kenani. Enosi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'afa nga wa myaka lwenda mu etaano. Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu, n'azaala Mahalaleeli. Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'afa nga wa myaka lwenda mu kkumi. Mahalaleeli bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yaredi, Mahalaleeli n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'afiira ku myaka lunaana mu kyenda mu etaano. Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka. Yaredi n'awangaala emyaka emirala lunaana. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'afa ng'aweza emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri. Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Metuseela. Enoka n'awangaala emyaka emirala ebikumi bisatu, ng'atambulira wamu ne Katonda. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Yaweza emyaka egy'obukulu ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. Obulamu bwe bwonna yabumala wamu ne Katonda, oluvannyuma n'atalabikako nate, kubanga Katonda yamutwala. Metuseela bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n'azaala Lameka. Metuseela n'awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'afiira ku myaka lwenda mu nkaaga mu mwenda. Lameka bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi. N'agamba nti: “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe, mu nsi Mukama gye yakolimira.” N'amutuuma erinnya Noowa. Lameka yawangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'afa ng'awezezza emyaka lusanvu mu nsavu mu musanvu. Noowa bwe yali ng'aweza emyaka bitaano, n'azaala Seemu ne Haamu ne Yafeeti. Abantu bwe baatandika okweyongera obungi ku nsi, era nga bazadde abaana ab'obuwala, abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi, ne bawasaamu be baayagala. Mukama n'agamba nti: “Sijja kuleka bantu kuwangaala mirembe na mirembe, kubanga ba kufa. Banaawangaalanga emyaka egitasukka mu kikumi mu abiri.” Mu biro ebyo, ne mu biseera ebyaddirira, waaliwo abantu abawagguufu, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu. Abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda. Mukama bwe yalaba ng'abantu boonoonese nnyo ku nsi, era nga balowooza bibi byereere mu mitima gyabwe bulijjo, ne yejjusa olw'okubatonda n'okubateeka ku nsi. N'anakuwala, n'agamba nti: “Nja kusaanyaawo ku nsi abantu be natonda, nsaanyeewo n'ensolo era n'ebinyonyi, kubanga nejjusizza okulaba nga nabikola.” Wabula n'asiima Noowa. Bino bye bifa ku Noowa: Noowa yali mutuukirivu, nga taliiko ky'anenyezebwa mu mulembe gwe. Obulamu bwe bwonna yabumala wamu ne Katonda. Bano be baana be yazaala: yazaala Seemu ne Haamu ne Yafeeti. Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, era n'ejjula eby'obukambwe. Katonda n'atunuulira ensi, n'alaba ng'eyonoonese, kubanga buli muntu yali ayonoonye obulamu bwe ku nsi. Katonda n'agamba Noowa nti: “Nsazeewo okuzikiriza abantu bonna, kubanga ensi ejjudde eby'obukambwe bye bakola. Kale nja kubazikiririza wamu n'ensi. Weekolere eryato mu mbaawo ennungi, olisalemu ebisenge, olisiige envumbo munda ne kungulu. Likole nga lya mita kikumi mu asatu mu ssatu obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri obugazi, ne mita kkumi na ssatu obugulumivu. Lizimbe nga lya kalina ssatu, oteekeko eddirisa ng'oleseeyo sentimita amakumi ana mu nnya okuva waggulu, era oliteekeko omulyango mu mbiriizi zaalyo. Nja kuleeta omujjuzo gw'amazzi ku nsi okuzikiriza buli kiramu kyonna. Buli kintu ku nsi kijja kufa. Naye ndikola naawe endagaano. Oliyingira mu lyato, ggwe ne mukazi wo, n'abaana bo, era ne bakazi baabwe. Oliyingiza mu lyato ekisajja n'ekikazi ekya buli kiramu ekirina omubiri, biwonere wamu naawe. Oliyingiza buli kika eky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ensolo n'eky'ebyewalula ku ttaka. Olibiyingiza bibiri bibiri biwone okufa. Otwalanga n'otereka ku buli kika kya mmere eyiyo gy'olirya, ne ku buli kika kya mmere eyaabyo.” Noowa n'akola byonna Katonda bye yamulagira okukola. Mukama n'agamba Noowa nti: “Yingira mu lyato n'ab'omu nnyumba yo bonna, kubanga ndabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange, mu mulembe guno. Ku buli nsolo nnongoofu, twalako musanvu musanvu: ensajja n'enkazi. Naye ku zitali nnongoofu, twalako bbiri, ensajja n'enkazi. Era ne ku bibuuka mu bbanga, twalako musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi, buli kika kyabyo kiryoke kireme kuzikirira ku nsi, kubanga nga wayise ennaku musanvu, nja kutonnyesa enkuba, etonnyere ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, ezikirize ku nsi ebiramu byonna bye nakola.” Noowa n'akola byonna Mukama bye yamulagira. Noowa yali aweza emyaka lukaaga egy'obukulu, omujjuzo gw'amazzi we gwajjira ku nsi. N'ayingira mu lyato ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi b'abaana be, okuwona omujjuzo gw'amazzi. Ku buli kika kya nsolo ennongoofu n'ezitali nnongoofu, ne ku buli kika ky'ebibuuka mu bbanga, n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne kubaako ebiyingira ne Noowa mu lyato bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, nga Katonda bwe yalagira Noowa. Bwe waayitawo ennaku musanvu, omujjuzo gw'amazzi ne gujja ku nsi. Mu mwaka ogw'olukaaga ogw'obulamu bwa Noowa, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu, mu mwezi ogwokubiri, ensulo zonna ez'omu guyanja, ne zizibukuka, n'ebituli byonna eby'oku ggulu ne bigguka. Enkuba n'etandika okutonnya ku nsi, okumala ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro. Ku lunaku olwo lwennyini, Noowa ne mukazi we ne bayingira mu lyato, wamu ne batabani baabwe Seemu, ne Haamu, ne Yafeeti, ne bakazi baabwe. Buli kika kya nsolo entono n'ennene, enfuge n'ez'omu ttale, na buli kika ky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira nabo mu lyato. Ebyayingira ne Noowa mu lyato, byali ekisajja n'ekikazi ku buli kika ky'ebiramu, nga Katonda bwe yamulagira. Awo Mukama n'amuggalira munda. Omujjuzo gw'amazzi ne gubeera ku nsi ennaku amakumi ana, amazzi ne geeyongera obungi, ne gasitula eryato, ne galiggya ku ttaka. Amazzi ne geeyongera nnyo obungi, ne gajjuza wonna, eryato ne liseeyeeya kungulu ku go. Amazzi ne gasituka nnyo, ne gabuutikira ensozi ezisingira ddala obugulumivu, entikko z'ensozi ne zisigala mita musanvu wansi w'amazzi. Ebiramu byonna ku nsi, omuli ensolo enfuge n'ez'omu ttale n'ebibuuka mu bbanga, n'abantu bonna, ne bifa. Buli kintu ku nsi ekissa omukka, ne kifa. Mukama n'azikiriza ebiramu byonna ku nsi: abantu n'ensolo n'ebyewalula ku ttaka, n'ebibuuka mu bbanga. Noowa n'asigalawo yekka, n'abo abaali naye mu lyato. Amazzi ne gatakendeera okumala ennaku kikumi mu ataano. Katonda n'ateerabira Noowa, n'ensolo, na buli kiramu ekyali ne Noowa mu lyato. Katonda n'akunsa embuyaga ku nsi, amazzi ne gatandika okukendeera. Ensulo ez'ennyanja, n'ebituli eby'eggulu, ne biggalira. Enkuba n'erekera awo okutonnya, amazzi ne gagenda nga gakendeera mpolampola, okumala ennaku kikumi mu ataano. Ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu mu mwezi ogw'omusanvu, eryato ne lituula ku nsozi z'omu Ararati. Amazzi ne geeyongera okukendeera. Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi, entikko z'ensozi ne zirabika. Bwe waayitawo ennaku amakumi ana Noowa n'aggulawo eddirisa ly'eryato lye yakola. N'atuma nnamuŋŋoona n'agenda ng'abuuka mu bbanga nga bw'adda okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi. Awo Noowa n'atuma ejjiba ne lifuluma, okulaba oba ng'amazzi gakendedde ku nsi. Naye kubanga amazzi gaali gakyajjudde wonna ku nsi, lyabulwa awakalu we lirinnya, ne likomawo ku lyato. Noowa n'afulumya omukono gwe n'alikwata n'aliyingiza mu lyato. N'alindako ennaku endala musanvu, n'addamu okutuma ejjiba wabweru. Ne likomawo olweggulo nga lirina akakoola akabisi ak'omuzayiti mu kamwa kaalyo. Noowa n'amanya nti amazzi gakendedde ku nsi. Olwo n'alinda ennaku endala musanvu, n'addamu okutumayo ejjiba nate. Ku mulundi ogwo ne litakomawo gy'ali. Noowa bwe yali nga wa myaka lukaaga mu gumu, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'olubereberye, amazzi gaali nga gakalidde ku nsi. Noowa n'aggyako ekisaanikira ky'eryato, n'atunula ku buli ludda, n'alaba nga kungulu ku nsi kukalidde. Ku lunaku olw'amakumi abiri mu omusanvu olw'omwezi ogwokubiri, ensi yali ekalidde ddala. Katonda n'agamba Noowa nti: “Va mu lyato, awamu ne mukazi wo, n'abaana bo, era ne bakazi baabwe. Fuluma wamu n'ebiramu byonna ebya buli ngeri ebiri naawe, ebibuuka mu bbanga, n'ensolo, ne byonna ebyewalula ku nsi, bizaalenga byale, bibune ku nsi yonna.” Awo Noowa n'afuluma awamu ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi baabwe. Buli nsolo, na buli ekyewalula ku ttaka, na buli ekibuuka mu bbanga, ne bifuluma mu lyato, nga biri mu bika byabyo. Noowa n'azimbira Mukama alutaari, n'alondayo emu emu ku nsolo ne ku nnyonyi ennongoofu, n'azookya ku alutaari nga za kitambiro. Akawoowo ak'ekitambiro ne kasanyusa Mukama, Mukama n'agamba munda ye nti: “Sikyaddamu kukolimira nsi olw'ebyo omuntu by'akola, kubanga ebirowoozo by'omuntu bibi okuviira ddala mu buto bwe. Sikyaddamu kuzikiriza biramu byonna nga bwe nkoze kaakano. Ensi ng'ekyaliwo, wanaabeerangawo okusiga n'okukungula, obunnyogovu n'ebbugumu, ekyeya n'obutiti, era n'emisana n'ekiro.” Katonda n'awa Noowa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti: “Muzaale nnyo, mweyongere obungi, mujjuze ensi. Ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga na buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja, binaabatyanga. Biteekeddwa mu buyinza bwammwe. Byonna munaabiryanga. Mbibawadde, nga bwe n'abawa ebimera byonna, bibeerenga emmere yammwe. Naye kye mutaalyenga ye nnyama ekyalimu omusaayi, kubanga obulamu buli mu musaayi. 15:23 Nnaabonerezanga buli asaanyaawo obulamu bw'omuntu. Ekibonerezo kye nnaawanga ensolo esse omuntu, kya kuttibwa. Buli atta omuntu, naye anattibwanga abantu, kubanga omuntu yatondebwa ng'afaanana Katonda. Era mmwe muzaale nnyo, mube n'abaana bangi ku nsi, mugibune.” Katonda n'agamba Noowa n'abaana be nti: “Kaakano nkola endagaano nammwe era n'ezzadde lyammwe erinaddangawo, na buli kitonde kyonna ekiramu, ensolo n'ebibuuka mu bbanga, era na buli kiramu kyonna ekivudde nammwe mu lyato. Nkola nammwe endagaano nti sikyaddamu kuzikiriza biramu byonna na mujjuzo gwa mazzi. Omujjuzo gw'amazzi teguliddamu kuzikiriza nsi.” Katonda era n'agamba nti: “Kano ke kabonero ak'endagaano ey'emirembe n'emirembe, gye nkoze nammwe era na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe: ntadde musoke ku bire, ye anaabanga akabonero ak'endagaano gye nkoze n'ensi. Bwe nnaaleetanga ebire ku ggulu musoke n'alabika, nnajjukiranga endagaano gye nkoze nammwe, era na buli kitonde ekiramu, nti omujjuzo gw'amazzi teguliddamu kuzikiriza biramu byonna ku nsi. Musoke bw'anaalabikanga ku bire, nnaamulabanga ne nzijukira endagaano ey'emirembe n'emirembe, nze Katonda gye nkoze n'ebitonde byonna ebiri ku nsi. Ako ke kabonero ak'endagaano gye nkoze n'ebiramu byonna ebiri ku nsi.” Abaana ba Noowa abaafuluma okuva mu lyato, ye Seemu ne Haamu ne Yafeeti. Haamu ye kitaawe wa Kanaani. Abaana ba Noowa abo abasatu, be baasibukamu abantu bonna ku nsi. Noowa yali mulimi, era ye muntu eyasooka okulima ennimiro y'emizabbibu. Bwe yanywa ku mwenge gw'emizabbibu, n'atamiira, n'agalamira mu weema ye ng'ali bwereere. Haamu, kitaawe wa Kanaani, bwe yalaba kitaawe ng'ali bwereere, n'agenda abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. Awo Seemu ne Yafeeti ne bakwata olugoye, ne balutwalira ku bibegabega byabwe. Ne bayingira mu weema nga batambula kyennyumannyuma, ne babikka kitaabwe, nga batunudde ebbali, baleme kulaba kitaabwe ng'ali bwereere. Noowa bwe yaddamu okutegeera, ng'omwenge gumuvuddeko, n'amanya mutabani we asinga obuto kye yamukola, n'agamba nti: “Kanaani akolimirwe! Anaabanga muddu wa baganda be.” Era n'agamba nti: “Mukama Katonda wange awe Seemu omukisa. Kanaani anaabanga muddu wa Seemu. Katonda ayaze Yafeeti! Bazzukulu be babeerenga wamu n'aba Seemu Kanaani anaabanga muddu wa Yafeeti.” Omujjuzo gw'amazzi nga guwedde, Noowa yawangaala emyaka ebikumi bisatu mu ataano. N'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu ataano. Bano be bazzukulu b'abaana ba Noowa. Seemu, Haamu ne Yafeeti, abo abasatu baazaala abaana ng'omujjuzo gw'amazzi gumaze okubaawo. Abaana ba Yafeeti be bano: Gomeri, Magogi, Madayi, Yavani, Tubali, Meseki, ne Tirasi. Abaana ba Gomeri, ye Asukenaazi, ne Rifati, ne Togaruma. Abaana ba Yavani be bano: Elisa, Tarusiisi, Kittimu, ne Dodanimu. Abo be baasibukamu abantu abali ku lubalama lw'ennyanja, ne ku bizinga. Abo be bazzukulu ba Yafeeti, nga bwe bali mu bika byabwe, ne mu mawanga gaabwe, era ne mu nnimi zaabwe ze boogera. Abaana ba Haamu be bano: Kuusi, Misiri, Libiya ne Kanaani. Abaana ba Kuusi be bano: Seba ne Avila, Sabuta, ne Raama, ne Sabuteka. Abaana ba Raama, ye Seba ne Dedani. Kuusi ye kitaawe wa Nimuroodi eyasooka okuba omusajja omuzira ku nsi. Yayambibwa Mukama, n'aba muyizzi muzira. Abantu kyebaavanga bagamba nti: “Mukama akufuule muyizzi muzira nga Nimuroodi!” Mu kusooka, obwakabaka bwe bwali buzingiramu Babeeli, Ereki, ne Akaadi, byonna eby'omu nsi Sinaari. Bwe yava mu nsi eyo, n'alaga mu Assiriya, n'azimba ebibuga Nineeve, Rehoboti Iri, Kala, ne Reseni, ekiri wakati wa Nineeve, n'ekibuga ekinene Kala. Misiri n'azaala Ludiimu ne Anamiimu ne Lehabiimu, ne Nafutuhiimu ne Paturusiimu ne Kasilukimu, abaasibukamu Abafilistiya ne Kafutorimu. Kanaani n'azaala Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keeti. Kanaani era ye yasibukamu Abayebusi n'Abaamori, n'Abagirugaasi, n'Abahiivi, n'Abasiini, n'Abaruvaadi, n'Abazemari, n'Abahamati. Awo ebika by'Abakanaani we byava okubuna, ensalo z'ensi yaabwe ne ziva e Sidoni okwolekera Gerari, okumpi ne Gaaza, ne zituuka e Sodoma ne Gomora, ne Aduma, ne Beboyimu, okumpi ne Lasa. Abo be bazzukulu ba Haamu mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera. Ne Seemu mukulu wa Yafeeti, era jjajja w'abaana ba Eberi, n'azaala abaana. Abaana be, be bano: Elamu, Assuri, Arupakusaadi, Ludi ne Aramu. Abaana ba Aramu ye: Wuuzi, Kuuli, Geteri ne Maasi. Arupakusaadi ye azaala Seela, kitaawe wa Eberi. Eberi yalina abaana babiri, omu nga ye Pelegi, kubanga mu mulembe gwe ensi mwe zaayawulibwamu, omulala nga ye Yokutaani. Yokutaani n'azaala Alumodaadi ne Selefu, ne Azarumaveeti, ne Yera, ne Adoramu, ne Wuuzali, ne Dikula, ne Obali, ne Abimayeli, ne Seba, ne Ofiri ne Avila, ne Yobabu. Abo bonna baana ba Yokutaani. Ensi mwe baali, yava ku Mesa, n'etuuka ku Sefari, ensi ey'ensozi mu buvanjuba. Abo be bazzukulu ba Seemu, mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera. Abantu abo bonna be bazzukulu ba Noowa, nga bwe bali mu bika byabwe ne mu mawanga gaabwe. Era mu abo mwe mwava amawanga ne gasaasaanira ensi, ng'omujjuzo gw'amazzi gumaze okubaawo. Ensi yonna yalina olulimi lumu n'ebigambo bye bimu ebyogerwa. Abantu bwe baali nga basenguka okuva ebuvanjuba, ne basanga olusenyi mu nsi y'e Sinaari, ne basenga omwo. Ne bagambagana nti: “Tubumbe amatoffaali, tugookye nnyo gagume.” Awo ne baba n'amatoffaali, mu kifo ky'amayinja, ne bagasibisa obudongo, mu kifo ky'ennoni. Ne bagamba nti: “Twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka ku ggulu, twekolere erinnya, era tuleme kusaasaanyizibwa ku nsi yonna.” Awo Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abantu bye bazimba. Mukama n'agamba nti: “Laba bano bonna bali bumu, era boogera olulimi lumu. Eno nno ye ntandikwa y'ebyo bye balikola. Tewali kye baagala kukola kiribalema. Kale tukke tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.” Awo Mukama n'abasaasaanya ku nsi yonna, ne balekera awo okuzimba ekibuga. Ekibuga ekyo ne kiyitibwa Babeeli, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi yonna, era okuva awo, n'asaasaanya abantu ku nsi yonna. Bano be bazzukulu ba Seemu. Seemu bwe yaweza emyaka kikumi, n'azaala Arupakusaadi, nga wayiseewo emyaka ebiri okuva ku mujjuzo gw'amazzi. Seemu n'awangaala emyaka emirala ebikumi bitaano, ng'amaze okuzaala Arupakusaadi, era n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Arupakusaadi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu etaano, n'azaala Seela. Bwe yamala okuzaala Seela, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Seela bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Eberi. Bwe yamala okuzaala Eberi, n'awangaala emyaka ebikumi bina mu esatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena, n'azaala Pelegi. Bwe yamala okuzaala Pelegi, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu asatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Pelegi bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Rewu. Bwe yamala okuzaala Rewu, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Rewu bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri, n'azaala Serugi. Rewu bwe yamala okuzaala Serugi n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Nahori. Serugi bwe yamala okuzaala Nahori, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Nahori bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda, n'azaala Teera. Nahori bwe yamala okuzaala Teera, n'awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n'azaala Aburaamu ne Nahori ne Harani. Bano be bazzukulu ba Teera, kitaawe wa Aburaamu ne Nahori ne Harani. Harani yazaala Looti. Harani yafiira mu kibuga ky'ewaabwe Wuuri eky'Abakaludaaya, nga kitaabwe akyali mulamu. Aburaamu n'awasa Saraayi, ne Nahori n'awasa Milika, muwala wa Harani era kitaawe wa Yisuka. Saraayi yali mugumba, nga talina mwana. Teera n'atwala mutabani we Aburaamu ne muzzukulu we Looti, mutabani wa Harani, ne mukaamwana we Saraayi, muka Aburaamu, n'ava nabo mu kibuga Wuuri eky'Abakaludaaya, bagende mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka e Harani, ne basenga eyo. Teera n'afiira eyo nga wa myaka ebikumi bibiri mu etaano. Awo Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Va mu nsi yo, oleke baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga. Ndikuwa abazzukulu bangi, abaliba eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo, obeerenga wa mukisa. Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era ndikolimira oyo alikukolimira. Era mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa. Awo Aburaamu bwe yali awezezza emyaka nsanvu mu etaano egy'obukulu, n'ava mu Harani, nga Mukama bwe yamugamba. Ne Looti n'agenda naye. Aburaamu n'atwala mukazi we Saraayi, ne Looti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baalina, n'abantu bonna be baafunira mu Harani, ne batambula okutuuka mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka mu Kanaani, Aburaamu n'ayita mu nsi eyo, n'atuuka mu kifo ky'e Sekemu, awali omuvule gwa More. Mu biseera ebyo, Abakanaani baali bakyali mu nsi eyo. Mukama n'alabikira Aburaamu n'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” Aburaamu n'azimbira eyo alutaari Mukama eyamulabikira. N'avaayo n'alaga ku lusozi, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Beteli, n'asimba eweema ye, nga Beteli kiri ebugwanjuba, ate nga Ayi kiri ebuvanjuba. Era n'eyo n'azimbayo alutaari, n'asinza Mukama. Aburaamu n'ayongera okutambula, ng'ayolekedde ebukiikaddyo obwa Kanaani. Ne wagwa enjala mu nsi eyo, Aburaamu n'aserengeta mu Misiri, agira abeera eyo, kubanga enjala yali nnyingi mu Kanaani. Bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri, n'agamba mukazi we Saraayi nti: “Mmanyi ng'oli mukazi mubalagavu. Kale Abamisiri bwe banaakulaba, bajja kugamba nti: ‘Oyo mukazi we.’ Olwo nze banzite, naye ggwe bakuleke ng'oli mulamu. Nkwegayiridde gamba nti oli mwannyinaze, balyoke bampise bulungi, era obulamu bwange buwone ku lulwo.” Awo Aburaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nnyo. N'abakungu b'omu lubiri bwe baamulaba, ne bamutendera kabaka, era ne bamutwala mu nnyumba ya kabaka. Olwa Saraayi oyo, kabaka n'ayisa bulungi Aburaamu n'amuwa ente n'endiga, n'embuzi, n'endogoyi, abaddu n'abazaana, n'eŋŋamiya. Naye kubanga kabaka yatwala Saraayi muka Aburaamu, Mukama n'aleetera kabaka n'ab'omu nnyumba ye endwadde ez'amaanyi, ezaababonyaabonya. Awo kabaka n'atumya Aburaamu, n'amugamba nti: “Kiki kino ky'onkoze? Lwaki tewambuulira nti mukazi wo? Lwaki wagamba nti mwannyoko, nze ne mmufuula mukazi wange? Kale mukazi wo wuuyo, mutwale, ogende.” Awo kabaka, n'alagira basajja be, ne bawerekera Aburaamu ne mukazi we, ne byonna bye yalina. Aburaamu n'ayambuka, n'ava mu Misiri, ng'ali ne mukazi we, ne byonna bye yalina, n'alaga mu bukiikaddyo obwa Kanaani. Ne Looti n'agenda naye. Aburaamu yalina obugagga bungi: ente n'endiga n'embuzi, ne ffeeza, ne zaabu. N'ava e Negebu n'atambula ng'ayolekedde Beteli. N'atuuka mu kifo ekiri wakati wa Beteli ne Ayi, eweema ye we yasooka okubeera, era we yazimba alutaari. Aburaamu n'asinziza eyo Mukama. Era ne Looti eyagenda ne Aburaamu, yalina endiga n'embuzi n'ente ne weema. N'olwekyo tewaali kifo kibamala okubeera awamu, kubanga baalina ebintu bingi. Ne wasitukawo enkaayana wakati w'abasumba ba Aburaamu n'abasumba ba Looti. Era mu kiseera ekyo Abakanaani n'Abaperizi baali bakyali mu nsi eyo. Awo Aburaamu n'agamba Looti nti: “Waleme kubaawo nkaayana wakati wo nange, wadde wakati w'abasumba bo n'abange, kubanga tuli baaluganda. Ensi yonna yiiyo! Twawukane. Bw'oneeroboza oludda olwa kkono, nze nadda ku lwa ddyo. Bw'oneeroboza oludda olwa ddyo, nze nadda ku lwa kkono.” Looti ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yorudaani lwonna, okutuukira ddala e Zowari, nga lulimu amazzi mangi, nga luli ng'ennimiro ya Mukama oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora. Awo Looti, ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yorudaani, n'atambula ng'ayolekedde obuvanjuba. Ne baawukana. Aburaamu n'abeera mu nsi y'e Kanaani. Looti n'abeera mu bibuga eby'omu lusenyi, n'asimba eweema ye okumpi ne Sodoma. Abantu b'omu Sodoma baali babi, nga boonoonyi nnyo mu maaso ga Mukama. Looti bwe yamala okwawukana ne Aburaamu, Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Weebunguluze amaaso go, otunule ku buli ludda ng'osinziira mu kifo mw'oli. Ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo ensi eyo yonna gy'olaba, ebe yiyo emirembe gyonna. Ndikuwa abazzukulu bangi ng'enfuufu eri ku nsi, era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, ne bazzukulu bo bwe baliyinza okubalibwa. Situka olambule ensi eyo yonna, kubanga ndigikuwa.” Aburaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'abeera mu Heburooni, okumpi n'emivule gya Mamure. N'azimbira eyo Mukama alutaari. Awo mu mirembe gya Amurafeeli, kabaka w'e Sinaari, ne Ariyooki, kabaka w'e Elasaari, ne Kedolawomeeri, kabaka w'e Elamu, ne Tidali, kabaka w'e Goyiimu, bakabaka abo ne balwanagana ne Bera, kabaka wa Sodoma, ne Birusa, kabaka w'e Gomora, ne Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semeberi, kabaka w'e Zeboyiimu, era ne kabaka w'e Bela, oba Zowari. Abo bonna ne beegattira mu kiwonvu ky'e Siddimu, kati ye Nnyanja y'Omunnyo. Baali bafugibwa Kedolawomeeri, okumala emyaka kkumi n'ebiri. Mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ne bajeema. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena, Kedolawomeeri ne bakabaka abaali awamu naye, ne bajja, ne bawangulira Abareefa mu Asitarootikarunayimu, n'Abazuuzi mu Haamu, n'Abeemi, mu Savekiriyatayimu, n'Abahoori ku lusozi lwabwe Seyiri, ne babagoba okutuuka mu Eluparani, ekiri okumpi n'eddungu. Olwo ne bakyuka, ne balaga e Enumisapaati (kati ye Kadesi), ne bawangula ensi yonna ey'Abamaleki n'ey'Abaamori, ababeera mu Hazazonutamari. Awo bakabaka ow'e Sodoma n'ow'e Gomora, n'ow'e Aduma, n'ow'e Zeboyiimu, n'ow'e Bela oba Zowari, ne bategekera wamu olutalo, mu kiwonvu Siddimu, okulwanyisa bakabaka: Kedolawomeeri ow'e Elamu, Tidali ow'e Goyiimu, Amurafeeli ow'e Sinaari, ne Ariyooki ow'e Elisaari, bakabaka bano abana nga balwanyisa bali abataano. Ekiwonvu ky'e Siddimu kyali kijjudde obunnya obw'ebitosi. Awo bakabaka b'e Sodoma ne Gomora bwe badduka, ne bagwa omwo. Abalala abaasigalawo ne baddukira ku lusozi. Bakabaka bali abana ne banyaga ebintu byonna mu Sodoma ne Gomora nga mw'otwalidde n'ebyokulya byonna, ne bagenda. Looti mutabani wa muganda wa Aburaamu, yabeeranga mu Sodoma. Era naye ne bamunyaga awamu n'ebintu bye byonna. Awo omuntu omu eyawonawo, n'ajja n'abuulira Aburaamu Omwebureeyi, eyabeeranga okumpi n'emivule gya Mamure Omwamori, muganda wa Esukooli ne Aneri, abaali bakolagana obulungi ne Aburaamu. Aburaamu bwe yawulira nga baanyaga omwana wa muganda we, n'agenda n'abasajja ab'omu maka ge, abaatendekebwa mu by'okulwana, bonna nga bawera ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, n'awondera bakabaka abana okutuuka e Daani. N'agabanyaamu basajja be mu bibinja, n'alumba abalabe ekiro, n'abawangula, n'abawondera okutuuka e Koba, mu bukiikakkono obwa Damasiko. N'akomyawo ebintu byonna bye baali banyaze, era n'akomyawo ne Looti, omwana wa muganda we, n'ebintu bye, n'abakazi n'abasibe abalala. Aburaamu bwe yakomawo, ng'amaze okutta Kedolawomeeri, ne bakabaka abalala abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu Kiwonvu ky'e Save (era ekiyitibwa Ekiwonvu kya Kabaka). Ne Melikizeddeki, kabaka w'e Saalemu, era kabona wa Katonda Atenkanika, n'aleeta omugaati n'omwenge ogw'emizabbibu, n'asabira Aburaamu omukisa ng'agamba nti: “Katonda Atenkanika eyakola eggulu n'ensi, awe Aburaamu omukisa. Era Katonda Atenkanika, eyakusobozesa okuwangula abalabe bo, atenderezebwe!” Aburaamu n'awa Melikizeddeki ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omunyago gwonna. Kabaka w'e Sodoma n'agamba Aburaamu nti: “Sigaza ebintu, naye ompe abantu bange bonna.” Aburaamu n'addamu kabaka w'e Sodoma nti: “Ngolola omukono gwange eri Katonda Atenkanika eyakola eggulu n'ensi, ne ndayira nti: ‘Sijja kutwala kintu kyo na kimu, wadde akaguwa oba akakoba akasiba engatto,’ oleme okugamba nti: ‘Nze nagaggawaza Aburaamu!’ Nze sijja kutwala kintu kyo na kimu, wabula ebyo abavubuka bye balidde, n'omugabo gwa Aneri, Esukooli, ne Mamure, abaagenda nange. Abo bafune omugabo gwabwe.” Ebyo bwe byaggwa, Aburaamu n'alabikirwa, n'awulira Mukama ng'amugamba nti: “Aburaamu totya, ndikuwonya akabi, era ndikuwa empeera ennene ennyo.” Aburaamu, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, ky'olimpa kiringasa ki, nga sirina mwana? Omusika wange ye Eliyezeeri ow'e Damasiko! Nze tewampa mwana, era omuddu eyazaalibwa mu maka gange ye musika wange!” Olwo n'awulira nga Mukama amugamba nti: “Omuddu oyo si ye aliba omusika wo, naye omwana gw'olizaala ggwe wennyini ye alikusikira.” Awo Mukama n'atwala Aburaamu ebweru, n'agamba nti: “Tunuulira eggulu, obale emmunyeenye, bw'oba ng'oyinza okuzibala.” Era n'amugamba nti: “N'ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo obungi.” Aburaamu n'akkiriza Mukama. Olw'ekyo Mukama n'amubala nga mutuukirivu. N'amugamba nti: “Nze Mukama eyakuggya mu Wuuri eky'Abakaludaaya, okukuwa ensi eno ebe yiyo.” Aburaamu n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nnaamanyira ku ki ng'eriba yange?” Mukama n'agamba nti: “Ndeetera ente ennyana, n'embuzi enduusi, n'endiga eya sseddume, nga zonna za myaka esatu, era leeta ejjiba n'enjiibwa ento.” Aburaamu n'amuleetera ebyo byonna. Ensolo n'azitemamu wakati, ebitundu n'abiteeka bibiri bibiri, nga bitunuuliganye. Naye ennyonyi n'atazitemamu. Ensega ne zikka ne zigwa ku nnyama, Aburaamu n'azigoba. Enjuba bwe yali ng'egwa, Aburaamu n'akwatibwa otulo tungi, era n'ajjirwa entiisa olw'enzikiza ekutte. Awo Mukama n'agamba nti: “Manyira ddala nga bazzukulu bo baliba bagwira mu nsi eteri yaabwe, era balifugirwayo n'obukambwe okumala emyaka ebikumi bina. Naye ndibonereza eggwanga eryo eriribafuga obuddu, olwo ne balivaamu nga balina ebintu bingi. Naye ggwe, bw'olimala okuwangaala obulungi, olifa mirembe, n'oziikibwa. Bazzukulu bo balikomawo wano, mu mulembe ogwokuna, kubanga obwonoonyi bw'Abaamori tebunnayitirira.” Awo enjuba bwe yamala okugwa, nga n'ekizikiza kikutte, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne birabika nga biyita wakati w'ebitundu by'ensolo. Ku lunaku olwo, Mukama n'akola endagaano ne Aburaamu, n'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga gw'e Misiri, okutuuka ku mugga omunene Ewufuraate, ng'otwaliddemu ensi z'Abakeeni, n'Abakenezi, n'Abakadumooni, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abareefa, n'Abaamori, n'Abakanaani, n'Abagirugaasi, n'Abayebusi.” Saraayi muka Aburaamu, teyazaalira bba mwana. Kyokka yalina omuzaana Omumisiri, erinnya lye Agari. Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Mukama anziyizza okuzaala. Twala omuzaana wange, oboolyawo alinzaalira abaana.” Aburaamu n'akkiriza Saraayi by'amugambye. Aburaamu bwe yali nga yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanaani, mukazi we Saraayi n'amuwa Agari omuzaana we Omumisiri, abe mukazi we. Aburaamu ne yeegatta ne Agari, Agari n'aba olubuto. Agari, bwe yalaba ng'ali lubuto, n'anyooma mugole we. Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Ekibi ekinkoleddwa kiddire ggwe. Nakuwa omuzaana wange. Kale bwe yalaba ng'ali lubuto, n'annyooma. Mukama asalewo omutuufu wakati wo nange.” Aburaamu n'agamba Saraayi nti: “Ndaba ono muzaana wo, era ali mu mikono gyo! Mukole ky'oyagala!” Awo Saraayi n'akambuwalira nnyo Agari, Agari n'amuddukako. Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agari awali oluzzi mu ddungu, mu kkubo eriraga e Suuri. N'agamba nti: “Agari, omuzaana wa Saraayi, ova wa, era ogenda wa?” Agari n'amuddamu nti: “Nziruka mugole wange Saraayi.” Malayika wa Mukama n'amugamba nti: “Ddayo eri mugole wo, omugonderenga.” Malayika wa Mukama era n'amugamba nti: “Ndikuwa abazzukulu bangi nnyo, abatasobola na kubalika. Kaakati oli lubuto, era ojja kuzaala omwana wa bulenzi era omutuume erinnya Yisimayeli, kubanga Mukama awulidde okukaaba kwo mu buyinike. Naye mutabani wo aliba ng'entulege. Anaalwanagananga na buli muntu, era buli muntu anaalwanagananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.” Agari n'ayita Mukama eyayogera naye, nti: “Katonda alaba. ” Kubanga yagamba nti: “Ddala ndabye ku Katonda, ne nsigala nga ndi mulamu?” Oluzzi olwo oluli wakati wa Kadesi ne Beredi kyerwava luyitibwa “Oluzzi lw'Omulamu Andaba.” Agari n'azaalira Aburaamu omwana ow'obulenzi, Aburaamu n'amutuuma erinnya Yisimayeli. Olwo Aburaamu yali aweza emyaka kinaana mu mukaaga. Awo Aburaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinzawaabyonna. Ompuliranga, era okolanga ebituufu. Ndikola naawe endagaano, era ndikuwa abazzukulu bangi.” Aburaamu ne yeevuunika ku ttaka. Katonda n'amugamba nti: “Laba nkoze naawe endagaano. Oliba jjajja w'amawanga mangi. Era tokyayitibwanga Aburaamu, naye erinnya lyo linaabanga Aburahamu, kubanga nkufudde jjajja w'amawanga amangi. Ndikuwa abazzukulu bangi, abamu ku bo baliba bakabaka. Oliba n'abazzukulu bangi, ne bafuuka amawanga. Ndinyweza endagaano gye nkoze naawe, era ne bazzukulu bo ab'emirembe gyonna, ebe ndagaano eteridiba. Nnaabanga Katonda wo era Katonda wa bazzukulu bo. Era ndikuwa ggwe ne bazzukulu bo ensi eno mw'oli. Ensi yonna ey'e Kanaani eriba ya bazzukulu bo emirembe gyonna, era nze nnaabanga Katonda waabwe.” Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Kale naawe wamu ne bazzukulu bo, munaakuumanga endagaano yange emirembe gyonna. Eno ye ndagaano wakati wammwe nange, ggwe ne bazzukulu bo, gye munaakuumanga: buli musajja mu mmwe, anaakomolwanga. Munaakomolebwanga. Ako ke kabonero ak'endagaano wakati wammwe nange. Okuva kati okutuusa emirembe gyonna, buli mwana ow'obulenzi mu mmwe, anaakomolebwanga nga wa nnaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abazaalirwa mu maka gammwe, ne be mugula mu bagwira. Buli azaalirwa mu maka gammwe, ne buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe. Buli musajja atakomoleddwa, taabalirwenga mu bantu bange, kubanga aba amenye endagaano yange.” Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Mukazi wo tokyamuyita Saraayi. Okuva kati, Saara lye linnya lye. Ndimuwa omukisa era naawe ndikuwa omwana ow'obulenzi mu ye. Ddala ndimuwa omukisa, era aliba nnyina w'amawanga. Mu bazzukulu be mulibaamu bakabaka.” Aburahamu n'avuunama ku ttaka, kyokka n'aseka, n'agamba mu mutima gwe nti: “Omusajja ow'emyaka ekikumi anaafuna omwana, era Saara awezezza emyaka ekyenda anaazaala?” Awo n'agamba Katonda nti: “Waakiri nno Yisimayeli abe mulamu, ansikire!” Katonda n'agamba nti: “Nedda, mukazi wo Saara alikuzaalira omwana ow'obulenzi, era olimutuuma erinnya Yisaaka. Ndinyweza endagaano yange naye era ne bazzukulu be, n'eba ya mirembe gyonna. Ne by'osabidde Yisimayeli mbiwulidde. Kale ndimuwa omukisa, era ndimuwa abaana bangi, n'abazzukulu bangi nnyo. Alizaala abakungu kkumi na babiri, era bazzukulu be ndibafuula eggwanga eddene. Naye endagaano yange ndiginyweza na mutabani wo Yisaaka, Saara gw'alikuzaalira mu biseera nga bino omwaka ogujja.” Katonda bwe yamala okwogera ne Aburahamu, n'ava awali Aburahamu, n'agenda. Ku lunaku olwo lwennyini, Aburahamu n'akomola mutabani we Yisimayeli n'abaddu bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne be yagula, era n'abasajja bonna ab'omu maka ge, nga Katonda bwe yamugamba. Aburahamu yali wa myaka kyenda mu mwenda we yakomolerwa, ate mutabani we Yisimayeli yali wa myaka kkumi n'esatu. Aburahamu ne mutabani we Yisimayeli baakomolebwa ku lunaku lwe lumu, awamu n'abasajja bonna ab'omu maka ge, abaazaalirwamu ne be yagula ku bagwira. Awo Mukama n'alabikira Aburahamu awali omuvule gwa Mamure. Aburahamu bwe yali ng'atudde mu mulyango gw'eweema ye mu ttuntu, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera abasajja basatu nga bayimiridde. Bwe yabalaba, n'adduka mbiro okubasisinkana. N'avuunama ku ttaka, n'agamba nti: “Mukama wange, kkiriza okyameko ew'omuweereza wo, tomuyitako, nkwegayiridde. Ka baleete amazzi munaabe ku bigere, muwummulireko mu kisiikirize ky'omuti, nga nange bwe ndeeta akookulya muddemu amaanyi, mulyoke mugende, kubanga we muzze wa muweereza wammwe.” Ne bagamba nti: “Kola bw'otyo nga bw'oyogedde.” Aburahamu n'ayanguwa n'ayingira mu weema, n'agamba Saara nti: “Teekateeka mangu ku buwunga obusinga obulungi, obugoye, ofumbe emmere.” Awo Aburahamu n'adduka n'ayingira mu ggana, n'alondamu ennyana ennyirivu era ensava, n'agikwasa omuweereza, eyagitta n'agifumba mangu. Aburahamu n'addira omuzigo n'amata n'ennyama y'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso g'abasajja abasatu, ye n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya. Ne bamubuuza nti: “Mukazi wo Saara ali ludda wa?” N'addamu nti: “Ali mu weema.” Mukama n'agamba nti: “Omwaka ogujja mu kiseera nga kino, nja kukomawo, era Saara mukazi wo aliba azadde omwana ow'obulenzi.” Saara yali mabega wa Aburahamu ku mulyango gw'eweema, ng'awulira. Aburahamu ne Saara baali bakaddiye nnyo, Saara nga takyabeera mu biseera by'empisa y'abakazi eya buli mwezi. Saara n'aseka munda ye, n'agamba nti: “Nga bwe mmaze okukaddiwa bwe nti, era nga ne baze naye akaddiye, nkyasobola okufuna ku ssanyu eryo?” Awo Mukama n'agamba Aburahamu nti: “Lwaki Saara asese, n'agamba nti: ‘Ddala ndizaala omwana nga nkaddiye?’ Waliwo ekizibuwalira Mukama? Nga bwe nagambye, ndikomawo wano mu kiseera nga kino omwaka ogujja, era Saara aliba azadde omwana wa bulenzi.” Saara ne yeegaana nti: “Sisese,” kubanga yatya. Oli n'addamu nti: “Leka kwegaana, osese.” Awo abasajja ne basituka, ne balaga mu kifo we balengerera Sodoma. Aburahamu n'agenda nabo okubawerekerako. Mukama n'agamba nti: “Sijja kukisa Aburahamu kye ŋŋenda okukola, kubanga bazzukulu be balifuuka eggwanga eddene ery'amaanyi, era mu ye, amawanga gonna ag'oku nsi mwe galiweerwa omukisa. Kyennava mmulonda, alyoke alagire abaana be ne bazzukulu be okumpuliranga, nga bakola ebituufu n'eby'amazima, ndyoke ntuukirize bye namusuubiza.” Awo Mukama n'agamba nti: “Okwemulugunyiza Sodoma ne Gomora nga bwe kuli okungi, era abaayo nga bwe bali aboonoonyi ennyo, ka nzikeyo mmanyire ddala oba ng'ebyogerwa ne bintuukako bituufu.” Awo abasajja ababiri ne bavaawo ne balaga e Sodoma, naye Aburahamu n'asigala ng'ayimiridde mu maaso ga Mukama. Aburahamu n'asembera kumpi, n'abuuza nti: “Ddala abatalina musango onoobazikiririza wamu n'abalina omusango? Mu kibuga bwe munaabeeramu abantu amakumi ataano abatalina musango, onoozikiriza ekibuga kyonna, n'otokisonyiwa olw'abatalina musango amakumi ataano abakirimu? Toyinza kukola ekyo, okutta abatalina musango awamu n'abalina musango. Ekyo toyinza kukikola, okubonereza abatalina musango. Omulamuzi w'ensi yonna ayinza obutasala mazima?” Mukama n'agamba nti: “Bwe nnaasanga mu Sodoma abantu amakumi ataano abatalina musango, nja kusonyiwa ekibuga kyonna olw'okubeera bo.” Aburahamu n'addamu nti: “Nsonyiwa, nze omuntu obuntu, okuguma okwogera naawe Afugabyonna. Naye singa ku makumi ataano abatalina musango, kunaabulako abataano, era onoozikiriza ekibuga kyonna, kubanga abataano babulako?” Mukama naddamu nti: “Sijja kukizikiriza bwe nnaasangamu amakumi ana mu abataano.” Aburahamu era n'agamba nti: “Oboolyawo munaasangibwamu amakumi ana bokka.” Mukama n'addamu nti: “Olw'amakumi ana, sijja kukizikiriza.” Aburahamu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Afugabyonna, tosunguwala, era ka njogere. Oboolyawo munaasangibwamu amakumi asatu.” N'addamu nti: “Siikizikirize bwe munaasangibwamu amakumi asatu.” Aburahamu n'agamba nti: “Nsonyiwa okuguma okwogera naawe, Afugabyonna. Oboolyawo munaasangibwamu amakumi abiri.” Mukama n'addamu nti: “Sijja kukizikiriza olw'abo amakumi abiri.” Aburahamu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Afugabyonna, tosunguwala, era ka njogere nate omulundi gumu gwokka. Oboolyawo munaasangibwamu kkumi.” N'addamu nti: “Sijja kukizikiriza olw'abo ekkumi.” Mukama bwe yamala okwogera ne Aburahamu, n'agenda, ne Aburahamu n'addayo eka. Bamalayika ababiri bwe baatuuka e Sodoma akawungeezi, Looti yali atudde ku mulyango gwa Sodoma. Looti bwe yabalaba, n'asituka okubasisinkana. N'avuunama ku ttaka, n'agamba nti: “Bakama bange, mbeegayiridde mukyame, muyingire omwange nze omuweereza wammwe, munaabe ku bigere era musule. Bwe bunaakya enkya, mukeere mugende.” Bo ne bagamba nti: “Nedda, tujja kusula wano ku luguudo.” Bwe yamala okubawaliriza ennyo, ne bagenda naye ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye. N'abafumbira embaga, nga kuliko emigaati egitazimbulukusiddwa, ne balya. Naye ng'abagenyi tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga Sodoma ne bazingiza ennyumba. Abantu bonna abato era n'abakulu ne bava wonna ne bajja. Ne bayita Looti, ne bamubuuza nti: “Abasajja abazze ewuwo ekiro kino bali ludda wa? Bafulumye, obatuwe tubeebakeko.” Looti n'afuluma ebweru gye bali, n'aleka ng'aggaddewo oluggi. N'agamba nti: “Baganda bange, mbeegayiridde, temukola kibi kyenkanidde awo! Mulabe, nnina bawala bange babiri embeerera. Ka nfulumye abo gye muli, mubakole kye mwagala. Naye temubaako kye mukola ku basajja abo, kubanga bagenyi mu maka gange, nteekwa okubakuuma.” Naye bo ne bagamba nti: “Vvaawo! Olusajja luno olwasenga obusenzi kuno, kati lwe lutuwa ebiragiro? Tujja kukukolako n'obukambwe n'okusinga bali.” Ne banyigiriza nnyo Looti, ne basembera okumenya oluggi. Naye abasajja ababiri abaali munda, be basikayo Looti, ne bamuyingiza mu nnyumba, ne baggalawo oluggi. Ne baziba amaaso g'abasajja bonna abaali ebweru, ne balemwa okuzuula oluggi we luli. Awo abasajja ababiri ne bagamba Looti nti: “Bw'oba ng'olina wano abantu bo abalala, abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, bakoddomi bo, n'abalala bonna b'olina mu kibuga, baggye mu kifo kino, kubanga tugenda kuzikiriza ekifo kino. Mukama awulidde okwemulugunyiza abantu bano, n'atutuma okuzikiriza Sodoma.” Awo Looti n'agenda eri abasajja abaali bagenda okuwasa bawala be, n'abagamba nti: “Musituke mangu, muve mu kifo kino, kubanga Mukama agenda okuzikiriza ekibuga.” Naye bo ne balowooza nti yali asaaga. Bwe bwakya enkya, bamalayika ne bakubiriza Looti ayanguwe, nga bagamba nti: “Situka otwale mukazi wo, ne bawala bo bombi abali wano, oleme okuzikirizibwa awamu n'ekibuga eky'aboonoonyi.” Looti n'alwa. Kyokka Mukama olw'okumusaasira, abasajja ne bakwata ku mukono Looti ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babatwala ebweru w'ekibuga. Bwe bamala okubaggyiramu ddala, omu ku bamalayika n'agamba nti: “Mudduke, muleme okufa. Temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi. Muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.” Naye Looti n'addamu nti: “Nedda, Mukama wange, nkwegayiridde. Onkwatiddwa nnyo ekisa, n'omponya okufa. Naye olusozi luli wala! Nnaaba sinnaba kutuukayo, akabi ne kantuukako, ne nfa. Akabuga ako akatono okalaba? Ke kali okumpi. Nzikiriza nzirukire omwo, mponye obulamu bwange. Ndaba n'obutono katono.” N'addamu nti: “Kale ekyo ky'osabye nakyo nkikirizza obutazikiriza kibuga ekyo. Yanguwako oddukire omwo, kubanga siyinza kubaako kye nkola nga tonnakituukamu.” Ekibuga ekyo Looti kye yayita ekitono, kyekyava kituumibwa erinnya Zowari. Enjuba yali ng'evuddeyo, Looti n'atuuka mu Zowari. Awo Mukama n'atonnyesa ku Sodoma ne Gomora omuliro n'obuganga, nga biva mu ggulu, n'azikiriza ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, awamu n'abantu bonna abaali mu bibuga ebyo, era n'ebimera byonna ku ttaka. Looti yali akulembeddemu, naye mukazi we eyali amugoberera, n'atunula emabega, n'afuuka empagi y'omunnyo. Aburahamu n'akeera enkya ku makya, n'alaga mu kifo mwe yayimirira mu maaso ga Mukama, n'atunuulira Sodoma ne Gomora, n'ensi ey'olusenyi, n'alengera omukka nga gunyooka ku nsi nga guli ng'ogw'ekikoomi. Naye Katonda bwe yali azikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Looti mwe yabeeranga, n'ajjukira Aburahamu, n'akkiriza Looti abiveemu. Looti yatya okusigala mu Zowari, kyeyava ayambuka ku lusozi, n'abeeranga mu mpuku wamu ne bawala be bombi. Omuwala omukulu n'agamba omuto nti: “Kitaffe akaddiye, ate tewali musajja mu nsi eno wa kutuwasa ng'empisa y'ensi yonna bw'eri. Kale tunywese kitaffe omwenge atamiire, tulyoke twebake naye atuzaalemu abaana, tukuume ezzadde lye.” Era ekiro ekyo, ne banywesa kitaabwe omwenge, omuwala omukulu n'ayingira ne yeegatta naye. Kyokka kitaabwe yali atamidde nnyo, n'atakimanya. Ku lunaku olwaddako, omuwala omukulu n'agamba omuto nti: “Ekiro nze neebase naye. Era tumunywese omwenge ekiro kino, naawe weebake naye, atuzaalemu abaana, tukuume ezzadde lye.” Era ekiro ekyo, ne banywesa kitaabwe omwenge, n'omuwala omuto n'agenda ne yeegatta naye. Kitaabwe era yali atamidde nnyo, n'atakimanya. Bwe batyo abaana ba Looti bombi abawala, ne baba embuto za kitaabwe. Omuwala omukulu n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Mowaabu. Oyo ye jjajja w'Abamowaabu abaliwo na kati. N'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benammi. Oyo ye jjajja w'Abammoni abaliwo na kati. Awo Aburahamu n'ava e Mamure, n'alaga mu nsi ey'omu bukiikaddyo, n'abeera wakati wa Kadesi ne Suuri. Bwe yali mu Gerari, n'agamba nti mukazi we Saara mwannyina. Awo Abimeleki, kabaka w'e Gerari, n'atuma ne bamuleetera Saara. Naye Katonda n'ajjira Abimeleki ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Laba, ggwe oli mufu wa jjo olw'omukazi gwe watwala, kubanga alina bba.” Naye Abimeleki yali tasembereranga Saara. Abimeleki n'agamba nti: “Mukama, onotta abantu abatalina musango? Aburahamu yennyini si ye yaŋŋamba nti oyo mwannyina, era n'omukazi yennyini n'agamba nti mwannyina? Ekyo nakikola mu mutima ogutaliimu bukuusa era omulongoofu.” Katonda n'amugamba mu kirooto nti: “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima omulongoofu, kyennava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako. Kale kaakano zzaayo muk'omusajja. Omusajja oyo nga bw'ali mulanzi, ajja kukusabira oleme kufa. Naye bw'otoomuzzeeyo, manya nti ddala oli wa kufa, ggwe n'abantu bo bonna.” Abimeleki n'agolokoka enkya ku makya, n'ayita abaweereza be bonna, n'ababuulira ebyo byonna, ne batya nnyo. Awo Abimeleki n'ayita Aburahamu n'amugamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Kibi ki kye nakukola, olyoke ondeetere nze n'ab'omu bwakabaka bwange, ekibi ekyenkanidde awo? Wankola ekitagwanidde kukolebwa.” Abimeleki n'ayongera okugamba Aburahamu nti: “Wagenderera ki okukola otyo?” Aburahamu n'addamu nti: “Nalowooza nti mu kifo kino, tewali kutya Katonda, era nti bagenda kunzita olwa mukazi wange. Era n'ekirala, Saara mwannyinaze ddala, mwana wa kitange, naye nga si wa mmange, wabula yafuuka mukazi wange. Kale Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange, mbungeeterenga mu nsi engwira, ne ŋŋamba Saara nti: ‘Kino kye ky'ekisa ky'ononkoleranga: mu buli kifo mwe tunaatuukanga, ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ” Awo Abimeleki n'awa Aburahamu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, era n'amuddiza mukazi we. Abimeleki n'agamba nti: “Ensi eyange, yonna yiiyo, beera wonna w'oyagala.” N'agamba Saara nti: “Laba mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza, nga ke kabonero akakakasa bonna b'oli nabo nti toliiko musango, era nga wejjeeredde.” Awo Aburahamu n'asaba Katonda, Katonda n'awonya Abimeleki ne mukazi we n'abazaana be, ne basobola okuzaala abaana, kubanga Mukama yali asibye embuto z'abakazi bonna mu maka ga Abimeleki, olwa Saara muka Aburahamu. Mukama n'awa Saara omukisa, nga bwe yali asuubizza. Saara n'aba olubuto, n'azaalira Aburahamu omwana ow'obulenzi nga Aburahamu akaddiye, mu biro Katonda bye yamutegeezaako. Aburahamu n'atuuma omwana oyo erinnya Yisaaka. Yisaaka bwe yaweza ennaku omunaana, Aburahamu n'amukomola, nga Katonda bwe yamulagira. Aburahamu yali awezezza emyaka kikumi, omwana we Yisaaka okuzaalibwa. Saara n'agamba nti: “Katonda ansesezza. Buli anaawuliranga kino, anaasekeranga wamu nange.” Era n'agamba nti: “Ani eyandigambye Aburahamu nti Saara oliyonsa abaana? Naye kati mmuzaalidde omwana ow'obulenzi, nga Aburahamu akaddiye.” Omwana Yisaaka n'asuumuka n'ava ku mabeere, era ku lunaku lwe yaviirako ku mabeere, Aburahamu n'afumba embaga nnene. Awo Saara n'alaba Yisimayeli, omwana Agari gwe yazaalira Aburahamu, ng'azannya ne Yisaaka. Saara n'agamba Aburahamu nti: “Goba omuzaana ono n'omwana we, kubanga omwana w'omukazi ono omuzaana tajja kugabana ku bya busika bwa mwana wange Yisaaka.” Ekyo ne kinakuwaza nnyo Aburahamu, kubanga ne Yisimayeli mwana we. Naye Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Leka kunakuwala olw'omulenzi n'olw'omuzaana wo. Kola byonna Saara by'akugamba, kubanga mu Yisaaka mw'olifunira abazzukulu be nakusuubiza. Era omwana w'omuzaana naye ndimufuula eggwanga, kubanga naye mwana wo.” Aburahamu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emigaati n'ensawo ey'eddiba ejjudde amazzi, n'abiwa Agari ng'abimuteeka ku kibegabega, n'omwana, n'amugamba nti: “Genda.” Agari n'agenda, n'abundabundira mu ddungu ery'e Beruseba. Amazzi bwe gaggwaamu mu nsawo ey'eddiba, n'assa omwana mu kisaka, n'agenda n'atuula walako ng'amutunuulira, mu bbanga lya mita nga kikumi, kubanga yagamba nti: “Ka nneme okulaba omwana ng'afa!” Bwe yatuula n'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba. Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi, era malayika wa Katonda n'ayita Agari ng'asinziira mu ggulu, n'amugamba nti: “Obadde ki, Agari? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi. Situka ositule omulenzi omukwate mu mikono gyo. Ndimufuula eggwanga eddene.” Awo Katonda n'azibula amaaso ga Agari, n'alaba oluzzi. N'agenda, n'ajjuza ensawo ey'eddiba amazzi, era n'awa omulenzi okunywa. Katonda n'aba wamu n'omulenzi. Omulenzi n'akula, n'abeeranga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale. Mu ddungu ery'e Palani, gye yabeeranga. Nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri. Awo mu biro ebyo Abimeleki ng'ali wamu ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye, n'agenda eri Aburahamu n'amugamba nti: “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola. Kale nno ndayirira wano mu maaso ga Katonda nti tonkuusekuusenga nze n'abaana bange, wadde bazzukulu bange. Naye nga bwe nkukoledde eby'ekisa, ndayirira nti onookolanga bw'otyo gye ndi n'eri ensi mw'oli.” Aburahamu n'agamba nti: “Ndayira.” Awo Aburahamu ne yeemulugunyiza Abimeleki olw'oluzzi, abaweereza ba Abimeleki lwe baamuggyako olw'empaka. Abimeleki n'agamba nti: “Eyakola ekyo simumanyi, naawe tokimbuulirangako. Olwaleero lwe nsoose okukiwulira.” Aburahamu n'addira endiga n'ente, n'abiwa Abimeleki, ne bakola bombi endagaano. Aburahamu n'ayawulamu mu kisibo kye endiga enduusi musanvu. Abimeleki n'amubuuza nti: “Endiga ezo enduusi omusanvu z'oyawuddeko, zitegeeza ki?” Aburahamu n'addamu nti: “Kkiriza nkuwe endiga ezo enduusi omusanvu, ekyo kiryoke kikakase ng'okkirizza nti nze nasima oluzzi olwo.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira. Bwe baamala okukola endagaano e Beruseba, Abimeleki ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye ne baddayo mu nsi y'Abafilistiya. Aburahamu n'asimba omuti omunyulira mu Beruseba, n'asinziza eyo Mukama Katonda ow'emirembe gyonna. Aburahamu n'abeera mu nsi y'Abafilistiya, ebbanga ddene. Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'ageza Aburahamu, n'amuyita nti: “Aburahamu!” Aburahamu n'addamu nti: “Nzuuno!” Katonda n'agamba nti: “Twala omwana wo Yisaaka, gw'olina omu yekka era gw'oyagala, ogende mu nsi Moriya, omuweereyo eyo abe ekitambiro ekyokebwa, ku lusozi lwe ndikulaga.” Enkeera ku makya, Aburahamu n'agolokoka, n'ayasa enku ez'okwokya ekitambiro, n'ategeka endogoyi ye, n'atwala babiri ku baweereza be, ne Yisaaka omwana we, n'alaga mu kifo Katonda kye yamutegeezaako. Ku lunaku olwokusatu, Aburahamu n'ayimusa amaaso ge n'alengera ekifo ekyo. N'agamba abaweereza be nti: “Musigale wano n'endogoyi, nze n'omulenzi tugende wali, tusinze, n'oluvannyuma tudde gye muli.” Aburahamu n'addira enku ez'okwokya ekitambiro, n'azitikka Yisaaka, omwana we, ye n'atwalira omuliro n'akambe mu ngalo ze, ne bagenda wamu bombi. Yisaaka n'agamba Aburahamu kitaawe nti: “Taata!” Aburahamu n'addamu nti: “Nzuuno, mwana wange.” Yisaaka n'agamba nti: “Laba, omuliro n'enku biibino. Naye omwana gw'endiga ogw'okutambira guluwa?” Aburahamu n'addamu nti: “Mwana wange, Katonda ye aneetegekera endiga ento ey'okutambira.” Bombi ne batambula ne beeyongerayo. Bwe baatuuka mu kifo, Katonda we yamugamba, Aburahamu n'azimba alutaari, n'ayaliirako enku, n'asiba Yisaaka omwana we, n'amugalamiza ku alutaari ku nku. N'agolola omukono gwe, n'akwata akambe okutta omwana we. Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'asinziira mu ggulu, n'agamba nti: “Aburahamu!” N'addamu nti: “Nzuuno!” N'agamba nti: “Omulenzi tomutta era tomukolako kabi. Kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo omu yekka.” Aburahamu ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba emabega we endiga ennume, ng'amayembe gaayo gawambidde mu kisaka. N'agenda n'agiggyayo, n'agiwaayo ebe ekitambiro ekyokebwa, mu kifo ky'omwana we. Aburahamu n'atuuma ekifo ekyo erinnya “Mukama ategeka.” Ne leero abantu bagamba nti: “Ku lusozi oluyitibwa ‘Mukama ategeka.’ ” Awo malayika wa Mukama n'ayita Aburahamu omulundi ogwokubiri, ng'asinziira mu ggulu, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Ndayidde mu linnya lyange, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka, ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era bazzukulu bo baliwangula abalabe baabwe. Mu bazzukulu bo, amawanga gonna ag'oku nsi mwe galiweerwa omukisa, kubanga owulidde ekiragiro kyange.’ ” Awo Aburahamu n'addayo eri abaweereza be, ne basituka, ne bagenda bonna wamu e Beruseba, Aburahamu n'abeeranga eyo. Ebyo bwe byaggwa, ne babuulira Aburahamu nti ne Milika yazaalira muganda we Nahori abaana: Wuzi omwana we omubereberye, ne Buzi muganda we; ne Kemweli kitaawe wa Aramu, ne Kesedi, ne Hazo, ne Piludaasi, ne Yidulaafu, ne Betweli. Betweli ye kitaawe wa Rebbeeka. Abo be baana omunaana, Milika be yazaalira Nahori muganda wa Aburahamu. Rewuma, omuzaana wa Nahori, naye n'azaala Teba ne Gahamu ne Tahasi, ne Maaka. Saara yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu, n'afiira mu Kiriyati-Aruba, ye Heburooni, mu nsi ya Kanaani. Aburahamu n'amukungubagira, n'amukaabira amaziga. Awo Aburahamu n'asituka n'ava awali omulambo gwa mukazi we, n'agenda eri Abahiiti, n'agamba nti: “Ndi mugwira era musenze mu nsi yammwe. Munguze ekifo eky'okuziikangamu abafu bange, kibe obutaka bwange mu nsi yammwe.” Abahiiti ne bamuddamu nti: “Wulira kye tugamba, ssebo. Gwe oli mukungu mukulu mu ffe. Ziika omufu wo mu ntaana gy'oneeroboza mu zonna ze tulina. Tewali n'omu mu ffe anaakumma entaana gy'alina, wadde okukuziyiza okuziikamu omufu wo.” Awo Aburahamu n'asituka n'avuunamira Abahiiti, n'abagamba nti: “Bwe musiima nziike omufu wange, munneegayiririre Efurooni mutabani wa Zohari, anguze empuku gy'alina eya Makupela, ekomerera ku nnimiro ye, agingulize wano mu maaso gammwe, ku muwendo gwayo omujjuvu, ebe obutaka bwange obw'okuziikangamu.” Ne Efurooni yennyini yali atudde wamu n'Abahiiti abalala, mu kifo ekikuŋŋaanirwamu ku mulyango gw'ekibuga. Efurooni n'addamu ng'abaliwo bonna bawulira nti: “Nedda, ssebo, wulira kye ŋŋamba. Ennimiro yonna, n'empuku ebirimu, mbikuwadde. Mbikuweeredde wano mu maaso g'abantu bange, oziikemu omufu wo.” Awo Aburahamu n'avuunama mu maaso g'Abahiiti. N'agamba Efurooni nga bannansi bawulira nti: “Nkwegayiridde, wulira kye ŋŋamba. Ennimiro yonna nja kugigula buguzi. Kkiriza ngisasule, nziikemu omufu wange.” Efurooni n'addamu Aburahamu nti: “Ssebo, wulira kye ŋŋamba. Akataka akagula ebitundu bya ffeeza ebikumi bina byokka, kakutawaanyiza ki? Ziikamu omufu wo.” Aburahamu n'akkiriza, n'apimira Efurooni ffeeza gwe yali ayogedde ng'Abahiiti bawulira: ebitundu ebikumi bina ebya ffeeza, ng'akozesa ekipimo ky'abasuubuzi. Bw'etyo ennimiro ya Efurooni ey'e Makupela mu buvanjuba bwa Mamure, omwali empuku n'emiti gyonna, okutuukira ddala ennimiro gy'ekoma, bwe byafuuka ebya Aburahamu. Abahiiti bonna abaali mu lukuŋŋaana ku mulyango gw'ekibuga, ne bakakasa nga bw'eri eya Aburahamu. Ebyo bwe byaggwa, Aburahamu n'aziika mukazi we Saara mu mpuku y'omu nnimiro y'e Makupela, mu buvanjuba bwa Mamure, ye Heburooni, mu nsi ya Kanaani. Ennimiro n'empuku ebirimu, ebyali eby'Abahiiti, ne bifuukira ddala ebya Aburahamu eby'okuziikangamu abafu be. Aburahamu yali akaddiye nnyo, era Mukama yali amuwadde omukisa mu byonna bye yakola. Awo Aburahamu n'agamba omuweereza we asinga obukulu mu nnyumba ye era eyalabiriranga byonna nti: “Teeka ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange, nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nti toliwasiza mwana wange mukazi ava mu bantu ba wano mu Kanaani, be mbeeramu. Naye ogendanga mu nsi gye nazaalibwamu, era mu baganda bange, n'owasiza omwana wange Yisaaka omukazi.” Omuweereza n'agamba nti: “Omukazi bw'atalikkiriza kuva waabwe kujja nange mu nsi eno? Olwo mutabani wo gwe ndizzaayo mu nsi gye wava?” Aburahamu n'agamba nti: “Togezanga n'ozzaayo omwana wange. Mukama Katonda w'eggulu eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi gye nazaalibwamu, era eyayogera nange n'andayirira nti bazzukulu bange alibawa ensi eno, alituma malayika we okukukulembera, owasize omwana wange omukazi aliva eyo. Naye omukazi bw'atalikkiriza kujja naawe, tolibaako musango olw'ekirayiro kino ky'ondayiridde. Naye ky'otogezanga kukola, kwe kuzzaayo omwana wange.” Omuweereza n'ateeka ekibatu kye wansi w'ekisambi kya Aburahamu mukama we, n'amulayirira mu ebyo Aburahamu bye yasaba. Omuweereza n'atwala kkumi ku ŋŋamiya za mukama we, n'agenda e Mesopotaamiya, mu kibuga kya Nahori, ng'alina ebirabo byonna ebirungi, by'aggye ewa mukama we. Bwe yatuukayo, n'afukamiza eŋŋamiya ebweru w'ekibuga, awali oluzzi. Obudde bwali buwungeera, mu kiseera abakazi we bafulumira okukima amazzi ku luzzi. N'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu, nkusaba ompe omukisa mu bye nnaakola olwaleero, era okolere mukama wange Aburahamu eby'ekisa. Laba nnyimiridde wano ku luzzi, abawala b'omu kibuga we bajja okukima amazzi. Kale omuwala gwe nnaagamba nti: ‘Ssa ensuwa yo, ompe ku mazzi nnywe,’ n'agamba nti: ‘Nywa, era n'eŋŋamiya zo nnaazisenera ne zinywa,’ nga ye oyo gw'olondedde omuweereza wo Yisaaka. Ekyo kwe nnaategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.” Bwe yali ng'akyayogera, Rebbeeka n'atuuka ng'asitulidde ensuwa ye ku kibegabega kye. Rebbeeka ono, yali muwala wa Betweli omwana wa Milika muka Nahori, muganda wa Aburahamu. Yali muwala mulungi nnyo mu ndabika, nga muto era nga mbeerera. N'aserengeta ku luzzi, n'ajjuza ensuwa ye, n'avaayo. Omuweereza n'adduka okumusisinkana, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mazzi mu nsuwa yo nnyweko.” Rebbeeka n'agamba nti: “Ssebo, nywa.” Amangwago ne yeetikkula ensuwa ku kibegabega, n'agikwata mu mikono gye, n'amuwa okunywa. Awo bwe yamala okumuwa okunywa, n'agamba nti: “Ka nsenere n'eŋŋamiya zo, nazo zinywe zikkute.” N'ayanguwako, amazzi agaali mu nsuwa ye n'agafuka mu kyesero, n'adduka n'addayo ku luzzi, n'asenera eŋŋamiya z'omusajja zonna. Omusajja n'amwekaliriza amaaso mu kasirise, okulaba oba nga Mukama awadde olugendo lwe omukisa. Eŋŋamiya bwe zaamala okunywa, omusajja n'aggyayo empeta eya zaabu enzito, n'obukomo bubiri obunene era obwa zaabu, obw'okwambala ku mikono gye. N'agamba nti: “Nkwegayiridde mbuulira, oli muwala w'ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekifo mw'ayinza okutusuza?” N'amuddamu nti: “Ndi muwala wa Betweli mutabani wa Nahori ne Milika.” Era n'amugamba nti: “Tulina essubi n'ebyokulya ebinaamala ensolo zo, era tulina n'ekifo eky'okusulamu.” Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama. N'agamba nti: “Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu atenderezebwe, kubanga alaze nga bw'ayagala mukama wange, era nga bw'ali omwesigwa gy'ali. Ate nange Mukama annuŋŋamizza n'antuusa mu maka ga baganda ba mukama wange.” Omuwala n'adduka n'agenda abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ebyo byonna. Rebbeeka yalina mwannyina, erinnya lye Labani. Labani oyo n'afuluma n'adduka ng'alaga ku luzzi, awali omusajja. Labani yamala kulaba mpeta n'obukomo, ku mikono gya mwannyina, era yamala kuwulira mwannyina oyo ng'anyumya ebyo omusajja bye yamugambye, n'alyoka agenda eri omusajja n'amusanga ng'ayimiridde ku mabbali g'eŋŋamiya ze, okumpi n'oluzzi. Labani n'agamba nti: “Jjangu tugende eka, ggwe Mukama gw'awadde omukisa. Lwaki osigala ebweru? Nteeseteese ennyumba n'ekifo ky'eŋŋamiya.” Awo omusajja n'ayingira mu nnyumba. Labani n'asumulula emigugu ku ŋŋamiya n'aleeta essubi n'ebyokulya eby'eŋŋamiya, era n'amazzi omusajja n'abaali naye ge banaanaaba ebigere. Omusajja bwe baamuleetera emmere, n'agamba nti: “Sijja kulya nga sinnayanjula bye bantuma.” Labani n'agamba nti: “Yogera.” Omusajja n'agamba nti: “Nze ndi muweereza wa Aburahamu. Mukama yawa mukama wange oyo omukisa, n'amufuula mugagga. Yamuwa amagana g'ente n'embuzi n'endiga. Era yamuwa ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamiya n'endogoyi. Ne Saara muka mukama wange, n'azaalira mukama wange omwana ow'obulenzi, mu myaka egy'obukadde. Omwana oyo, mukama wange n'amuwa byonna by'alina. Era mukama wange n'andayiza n'agamba nti: ‘Towasiza mwana wange mukazi mu bawala ba mu nsi eno mwe mbeera, Abakanaani. Naye oligenda mu maka ga kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi.’ Ne ŋŋamba mukama wange nti: ‘Omukazi bw'atalikkiriza kujja nange?’ N'aŋŋamba nti: ‘Mukama gwe mpulira bulijjo, alituma malayika we wamu naawe, n'awa olugendo lwo omukisa, owasize omwana wange omukazi, aliva mu baganda bange, ne mu maka ga kitange. Kimu kyokka ekirikuwonya omusango: bw'olituuka mu baganda bange, ne batakuwa mukazi, olwo tolibaako musango olw'ekirayiro ky'ondayiridde.’ “Olwaleero natuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Aburahamu, oba onoowa olugendo lwange omukisa, laba, kaakano nnyimiridde wano ku luzzi. Kale nsaba kibe bwe kiti: omuwala anajja okusena amazzi gwe nnaagamba nti nkwegayiridde, mpa ku mazzi mu nsuwa yo nnyweko, ye n'aŋŋamba nti nywa, era n'eŋŋamiya zo ka nzisenere zinywe, nga ye wuuyo Mukama gw'alondedde omwana wa mukama wange.’ “Bwe nabadde nga nkyayogera ebyo mu mutima gwange, Rebbeeka n'ajja ng'alina ensuwa ku kibegabega kye, n'aserengeta ku luzzi okusena amazzi. Ne mmugamba nti: ‘Nkwegayiridde, mpa ku mazzi nnyweko.’ Amangwago ne yeetikkula ensuwa ye ku kibegabega kye, n'agamba nti: ‘Nywa, era n'eŋŋamiya zo nnaazisenera.’ Ne nnywa, era n'eŋŋamiya n'azinywesa. Ne mmubuuza nti: ‘Oli mwana w'ani?’ N'addamu nti: ‘Ndi mwana wa Betweli, mutabani wa Nahori ne Milika.’ Ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'obukomo ku mikono gye. Ne nkutama ne nsinza Mukama. Ne ntendereza Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu, eyannuŋŋamya mu kkubo ettuufu, ne ndabira omwana we omukazi mu baana ba muganda we. Kale kaakano, oba munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire. Oba temukkirize, era mumbuulire, ndyoke nsalewo kye nnaakola.” Awo Labani ne Betweli ne baddamu nti: “Ekyo kivudde wa Mukama. Tetuyinza kubaako kye tusalawo. Rebbeeka wuuno wano, mutwale ogende, abe mukaamwana wa mukama wo, nga Mukama yennyini bw'ayogedde.” Awo omuweereza wa Aburahamu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Mukama. Awo n'aggyayo amakula aga ffeeza n'aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Rebbeeka. Era n'awa ne mwannyina ebirabo eby'omuwendo ennyo. Awo omuweereza wa Aburahamu, n'abasajja abaali naye, ne balya ne banywa, ne basula awo. Bwe baagolokoka ku makya, omuweereza n'agamba nti: “Munsiibule nzireyo eri mukama wange.” Mwannyina Rebbeeka ne nnyina ne bagamba nti: “Omuwala k'agira abeerako naffe ennaku ntonotono, gamba nga kkumi, alyoke agende.” Omusajja n'agamba nti: “Muleme kundwisa kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa. Munsiibule nzireyo eri mukama wange.” Ne bagamba nti: “Ka tuyite omuwala tuwulire ky'agamba.” Ne bayita Rebbeeka, ne bamubuuza nti: “Onoogenda n'omusajja ono?” N'addamu nti: “Nnaagenda.” Awo ne basiibula Rebbeeka mwannyinaabwe n'eyali omulezi we, n'omuweereza wa Aburahamu, n'abasajja be. Ne basabira Rebbeeka omukisa, ne bagamba nti: “Mwannyinaffe, beera nnyina w'abantu nkumi na nkumi. Ne bazzukulu bo bawangulenga ebibuga by'abalabe baabwe.” Awo Rebbeeka n'abazaana be ne basituka ne beebagala ku ŋŋamiya, ne bagenda n'omuweereza wa Aburahamu. Bw'atyo omusajja oyo n'atwala Rebbeeka, n'agenda. Yisaaka n'ajja ng'ava mu Beerulakayirooyi, n'abeera mu nsi ey'ebukiikaddyo obwa Kanaani. Awo Yisaaka n'afuluma akawungeezi okutambulako mu nnimiro. N'ayimusa amaaso ge, n'alengera eŋŋamiya nga zijja. Rebbeeka bwe yayimusa amaaso ge, n'alengera Yisaaka, n'ava ku ŋŋamiya, n'abuuza omuweereza wa Aburahamu nti: “Omusajja oyo atambula mu nnimiro ng'ajja gye tuli, ye ani?” Omuweereza n'addamu nti: “Ye mukama wange.” Rebbeeka n'addira ekiremba kye, ne yeebikka mu maaso. Omuweereza n'ategeeza Yisaaka byonna bye yakola. Awo Yisaaka n'aleeta Rebbeeka mu weema eyali eya Saara nnyina, n'amufuula mukazi we. Yisaaka n'ayagala Rebbeeka, bw'atyo n'akubagizibwa olwa nnyina gwe yafiirwa. Awo Aburahamu n'awasa omukazi omulala, erinnya lye Ketura. N'amuzaalira Zimurani ne Yokusaani ne Medaani, ne Midiyaani ne Yisubaaki ne Suuwa. Yokusaani n'azaala Seba ne Dedani. Abaana ba Dedani be bano: Assurimu ne Letusimu ne Lewummimu. Abaana ba Midiyaani be bano: Efa, ne Eferi, ne Hanoki ne Abida ne Eluda. Abo bonna bazzukulu ba Ketura. Aburahamu n'awa Yisaaka byonna bye yalina. Naye Aburahamu bwe yali ng'akyali mulamu, n'awa ebirabo abaana ba bakazi be abalala be baamuzaalira. N'abasindika mu nsi ey'Ebuvanjuba, bave awali omwana we Yisaaka. Aburahamu yawangaala emyaka kikumi mu nsavu mu etaano, n'afa nga musajja mukadde, ow'emyaka egituukiridde, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Batabani be, Yisaaka ne Yisimayeli ne bamuziika mu mpuku ya Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, mu nnimiro eyali eya Efurooni, omwana wa Zohari Omuhiiti. Eyo ye nnimiro, Aburahamu gye yagula ku Bahiiti. Omwo Aburahamu mwe yaziikibwa, ne mukazi we Saara. Aburahamu bwe yamala okufa, Katonda n'awa Yisaaka omukisa, Yisaaka n'abeeranga kumpi ne Beerulakayirooyi. Yisimayeli, Agari Omumisiri omuzaana wa Saara gwe yazaalira Aburahamu, yazaala abaana bano, amannya gaabwe nga galiraanyizibwa nga bwe baagenda baddiŋŋanako mu kuzaalibwa kwabwe. Nebayooti ne Kedari, ne Adubeeli ne Mibusaamu, ne Misima ne Duma, ne Massa ne Hadadi, ne Tema ne Yeturi ne Nafisi, ne Kedema. Abo be baana ba Yisimayeli, bajjajja b'ebika kkumi na bibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baakuba eweema zaabwe. Yisimayeli yafa ng'awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Bazzukulu ba Yisimayeli baabeera mu kitundu ekiri wakati wa Avila ne Suuri, ebuvanjuba bwa Misiri, ng'ogenda mu Assiriya, nga beesudde ku bazzukulu ba Aburahamu abalala. Lino lye zzadde lya Yisaaka omwana wa Aburahamu: Yisaaka yali awezezza emyaka amakumi ana, n'awasa muwala wa Betweli Omwarumeeni ow'e Paddanaraamu, ayitibwa Rebbeeka, mwannyina Labani. Yisaaka ne yeegayirira Mukama ku lwa mukazi we, kubanga Rebbeeka yali mugumba. Mukama n'awulira okwegayirira kwe, Rebbeeka n'aba olubuto. Lwali lwa balongo, era bwe baali nga tebannazaalibwa, ne bakoonaganira mu lubuto lwe. Rebbeeka n'agamba nti: “Oba bwe kiri bwe kiti, nze ndiba ntya?” N'agenda okwebuuza ku Mukama. Mukama n'agamba nti: “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo. Olizaala ebika bibiri ebyawukanye. Ekimu kinaasinzanga ekirala amaanyi, omukulu ye anaaweerezanga omuto.” Awo ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala abalongo ab'obulenzi. Omubereberye n'afuluma nga mumyufu, ng'olususu lwe luli ng'ekyambalo eky'ebyoya. Ne bamutuuma erinnya Esawu. Oluvannyuma n'owookubiri n'afuluma, ng'omukono gwe gukutte ku kisinziiro kya Esawu. Ne bamutuuma erinnya Yakobo. Rebbeeka yabazaala nga Yisaaka awezezza emyaka nkaaga. Abalenzi ne bakula, Esawu n'afuuka omuyizzi omukugu, omusajja anyumirwa eby'omu ttale. Ye Yakobo yali musajja muteefu, eyasigalanga awaka. Yisaaka yasinga kwagala Esawu, kubanga yalyanga ku nsolo Esawu ze yayigganga. Naye Rebbeeka yasinga kwagala Yakobo. Lwali lumu Yakobo n'afumba omugoyo, Esawu n'akomawo eka ng'ava mu ttale, ng'enjala emuluma. N'agamba Yakobo nti: “Enjala enzita! Mpa ndye ku mugoyo ogwo omumyufu.” Kyebaava bamuyita Edomu. Yakobo n'addamu nti: “Sooka onguze obukulu bwo obw'obuggulanda.” Esawu n'agamba nti: “Nzuuno mbulako katono okufa. Obukulu bulingasa ki?” Yakobo n'agamba nti: “Ndayirira kaakano nti obukulu bwo obunguzizza.” Esawu n'amulayirira, n'aguza Yakobo obukulu bwe. Awo Yakobo n'awa Esawu omugaati n'omugoyo gw'ebijanjaalo. Esawu n'alya era n'anywa, n'asituka n'agenda. Bw'atyo Esawu bwe yanyoomoola obukulu bwe. Ne wagwa enjala mu nsi, eteri eyo ey'olubereberye eyagwa mu biro bya Aburahamu. Yisaaka n'agenda eri Abimeleki, kabaka w'Abafilistiya mu Gerari. Mukama n'alabikira Yisaaka, n'agamba nti: “Toserengeta mu Misiri, sigala mu nsi eno, gye nakugamba okubeeramu. “Beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa. Ndikuwa ggwe ne bazzukulu bo, ebitundu bino byonna eby'ensi. Nnaatuukirizanga ekirayiro, kye nalayirira kitaawo Aburahamu. Ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu era ndibawa ebitundu bino byonna eby'ensi. Era mu bazzukulu bo, amawanga gonna ku nsi mwe galiweerwa omukisa, kubanga Aburahamu yawuliranga bye namukuutiranga, era yakwatanga amateeka gange gonna n'ebiragiro byange.” Yisaaka n'abeera e Gerari. Abasajja baayo bwe baamubuuza ku mukazi we, n'agamba nti mwannyina, kubanga yatya okwogera nti mukazi we, abasajja baayo baleme okumutta olwa Rebbeeka, eyali omulungi ennyo mu ndabika ye. Yisaaka bwe yali ng'amazeeyo ennaku nnyingiko, Abimeleki kabaka w'Abafilistiya n'atunula mu ddirisa, n'alaba Yisaaka ng'azannya ne Rebbeeka mukazi we. Abimeleki n'ayita Yisaaka, n'agamba nti: “Ddala ono mukazi wo. Kale lwaki wagamba nti mwannyoko?” Yisaaka n'amugamba nti: “Nalowooza nti bajja kunzita olw'okubeera ye.” Abimeleki n'agamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Omu ku basajja bange yandisobodde okwebaka ne mukazi wo, n'otuleetera omusango.” Abimeleki n'akuutira abantu bonna nti: “Buli alikwata ku musajja oyo, oba ku mukazi we, wa kuttibwa.” Awo Yisaaka n'asiga mu nsi eyo, n'akungula bya mirundi kikumi mu bye yasiga mu mwaka ogwo, kubanga Mukama yamuwa omukisa. Omusajja n'afuna ebintu, ne byeyongera nnyo, n'afuuka mugagga. Era kubanga yalina amagana g'ente n'endiga n'embuzi, era n'abaddu bangi, Abafilistiya ne bamukwatirwa obuggya. Awo ne baziba enzizi zonna, abaddu ba kitaawe Aburahamu ze baasima nga Aburahamu akyali mulamu, ne bazijjuzaamu ettaka. Abimeleki n'agamba Yisaaka nti: “Va mu nsi yaffe, kubanga ofuuse wa maanyi okutusinga.” Awo Yisaaka n'avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerari, n'abeera eyo. N'ayerula enzizi ezaali zisimiddwa, nga Aburahamu akyali mulamu, Abafilistiya ze baaziba nga Aburahamu amaze okufa. Yisaaka n'aziyita amannya ago gennyini, kitaawe ge yazituuma. Awo abaweereza ba Yisaaka ne basima oluzzi mu kiwonvu, ne bazuula amazzi amalungi. Abasumba ab'e Gerari ne bakaayana n'abasumba ba Yisaaka, nga bagamba nti: “Amazzi gano gaffe.” Yisaaka n'atuuma oluzzi olwo erinnya Eseki, kubanga baakaayana naye. Abaweereza ba Yisaaka ne basima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira. N'alutuuma erinnya Situna. N'ajjulukukayo, n'asima oluzzi olulala. Olwo lwo ne batalukaayanira, n'alutuuma erinnya Rehoboti. N'agamba nti: “Kaakano Mukama atugaziyizza, tujja kwala mu nsi.” N'avaayo n'ayambuka e Beruseba. Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'agamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo Aburahamu. Totya, kubanga nze ndi wamu naawe, nnaakuwanga omukisa, era ndikuwa abazzukulu bangi, olw'omuweereza wange Aburahamu.” Yisaaka n'azimba eyo alutaari, n'asinza Mukama. N'asimbayo eweema ye, era abasajja be ne basimayo oluzzi. Awo Abimeleki n'ava mu Gerari, ng'ali wamu ne Ahuzati mukwano gwe, ne Fikoli omuduumizi w'amagye ge, ne bagenda eri Yisaaka. Yisaaka n'ababuuza nti: “Kiki ekibaleese gye ndi, nga mwankyawa era nga mwangoba mu nsi yammwe?” Ne baddamu nti: “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti wabeewo obweyamo wakati wo naffe, era tukole endagaano naawe, nti ggwe tootukolengako kabi, nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera eby'ekisa, ne tukuleka n'ogenda mirembe. Kaakano Mukama ggwe gw'awadde omukisa.” Awo Yisaaka n'abafumbira embaga, ne balya ne banywa. Ne bagolokoka enkeera mu makya, ne bakola obweyamo ku buli ludda. Yisaaka n'abasiibula, ne baawukana naye mirembe. Ku lunaku olwo, abasajja ba Yisaaka ne bajja ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bagamba nti: “Tuzudde amazzi.” N'alutuuma erinnya Beruseba n'okutuusa kati. Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana, n'awasa Yudita muwala wa Beeri Omuhiiti. N'awasa ne Basemati muwala wa Eloni era Omuhiiti, ne bakalubya obulamu bwa Yisaaka ne Rebbeeka. Awo Yisaaka bwe yali ng'akaddiye, era ng'amaaso ge gazzeeko ekifu, nga takyasobola kulaba, n'ayita Esawu mutabani we omukulu, n'amugamba nti: “Mwana wange!” N'addamu nti: “Nzuuno.” Yisaaka n'agamba nti: “Olaba bwe nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako. Kale kaakano, kwata omutego gwo n'obusaale bwo bw'oyiggisa, ogende mu ttale onjiggire ensolo, onfumbire ennyama ey'akaloosa gye njagala, ogindeetere ndye, ndyoke nkuwe omukisa nga sinnafa.” Rebbeeka n'awulira nga Yisaaka ayogera ne mutabani we Esawu. Esawu bwe yagenda mu ttale okuyigga ensolo n'okugireeta, Rebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti: “Mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti: ‘Njiggira ensolo, onfumbire ennyama ey'akaloosa, ngirye, ndyoke nkuwe omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.’ Kale kaakano mwana wange, wulira bye ŋŋamba, era okole bye nkulagira. Genda mu kisibo ky'embuzi, ondeetereyo embuzi ento ennungi bbiri, nzirongoose, nfumbire kitaawo ennyama ey'akaloosa nga bw'ayagala, ggwe ogimutwalire alye, alyoke akuwe omukisa nga tannafa.” Naye Yakobo n'agamba Rebbeeka nnyina nti: “Omanyi nga muganda wange Esawu musajja wa bwoya, naye olususu olwange luweweevu. Oboolyawo taata anankwatako, n'azuula nga mmulimba, ne nneereetako okukolimirwa, mu kifo ky'okuweebwa omukisa.” Nnyina n'amugamba nti: “Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange, naye wulira kye nkugamba, ogende ondeetere embuzi.” N'agenda n'azikwata, n'azireetera nnyina, nnyina n'afumba ennyama ey'akaloosa nga kitaawe wa Yakobo bwe yayagala. Rebbeeka n'aggyayo ebyambalo ebya Esawu omwana we omukulu, ebisinga obulungi, bye yali aterese mu nnyumba, n'ayambaza Yakobo omwana we omuto. N'ateeka amaliba g'embuzi ento ku mikono gya Yakobo, ne ku nsingo awatali bwoya. N'akwasa omwana we Yakobo ennyama ey'akaloosa, n'emmere bye yali afumbye. Yakobo n'agenda eri kitaawe, n'agamba nti: “Taata!” N'addamu nti: “Nzuuno. Ggwe ani, mwana wange?” Yakobo n'agamba kitaawe nti: “Nze Esawu, omwana wo omuggulanda. Nkoze nga bwe wandagidde. Golokoka, otuule olye ku nnyama gye njizze, olyoke ompe omukisa.” Yisaaka n'agamba mutabani we nti: “Ogizudde otya amangu bw'otyo, mwana wange?” Yakobo n'addamu nti: “Mukama Katonda wo annyambye.” Yisaaka n'agamba Yakobo nti: “Kale sembera wano, nkuweeweeteko, mwana wange, mmanye oba nga ddala gwe mwana wange Esawu.” Yakobo n'asemberera Yisaaka kitaawe, Yisaaka n'amuweeweetako, n'agamba nti: “Eddoboozi lya Yakobo, naye emikono gya Esawu!” N'atamutegeera, kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng'egya muganda we Esawu. Yali anaatera okumuwa omukisa n'amugamba nti: “Ddala ggwe mwana wange Esawu?” N'amuddamu nti: “Nze wuuyo.” Yisaaka n'agamba nti: “Nsembereza ebyo by'oyizze, mwana wange, ndye ndyoke nkusabire omukisa.” Yakobo n'abimusembereza, n'alya. Era n'amuleetera n'omwenge ogw'emizabbibu n'anywa. Awo Yisaaka kitaawe n'amugamba nti: “Sembera onnywegere, mwana wange!” N'asembera, n'amunywegera, Yisaaka n'awunyirwa akawoowo k'ebyambalo bye. N'amuwa omukisa, n'agamba nti: “Akawoowo ak'omwana wange kali ng'akawoowo ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa. Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu, era agimusenga ennimiro zo. Akuwenga eŋŋaano nnyingi n'omwenge ogw'emizabbibu mungi. Abantu bakuweerezenga, n'amawanga gakuvuunamirenga. Ofugenga baganda bo n'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga. Buli akukolimira akolimirwenga, era buli akusabira omukisa, naye gumuweebwenga.” Awo Yisaaka bwe yali nga yaakamala okusabira Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava awali Yisaaka kitaawe, Esawu muganda we n'ayingira ng'ava okuyigga. Era naye n'afumba ennyama ey'akaloosa, n'agitwalira kitaawe. N'agamba kitaawe nti: “Taata, golokoka olye ku nnyama nze omwana wo gye njizze, olyoke ompe omukisa.” Yisaaka kitaawe n'amugamba nti: “Ggwe ani?” N'addamu nti: “Nze Esawu omwana wo omuggulanda.” Yisaaka n'akankana nnyo nnyini, n'agamba nti: “Kale oyo abadde ani eyayizze ensolo n'andeetera ennyama ne ngirya, nga tonajja, ne mmuwa omukisa? Era ddala gulimuweebwa.” Esawu bwe yawulira kitaawe by'ayogedde, n'atema emiranga n'akaaba nnyo olw'okunakuwala, n'agamba kitaawe nti: “Taata, nkwegayiridde, nange mpa omukisa.” Yisaaka n'agamba nti: “Muganda wo azze n'alimba, n'atwala omukisa gwo.” Esawu n'agamba nti: “Si kyeyava ayitibwa Yakobo? Lyamutuukira ddala bulungi, kubanga guno omulundi gwakubiri ng'atwala ekifo kyange. Yanzigyako obukulu bwange, ne kaakano laba anzigyeeko omukisa gwange.” Awo n'agamba nti: “Nze tonterekeddeeyo ku mukisa?” Yisaaka n'addamu nti: “Mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babenga baweereza be, era mmuwadde eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu. Kale kiki kye nnaakukolera ggwe mwana wange?” Esawu n'awanjagira kitaawe nti: “Olina omukisa gumu gwokka, taata? Mpa nange omukisa, ayi kitange!” N'aleekaana nnyo, n'akaaba. Awo Yisaaka kitaawe n'amuddamu nti: “Ennimiro zo teziibengamu bugimu, era toofunenga musulo oguva mu ggulu. Oneeyimirizangawo na kitala kyo, era onooweerezanga muganda wo. Naye bw'olyesumattula, olyeyambula ekikoligo kye mu bulago bwo.” Esawu n'akyawa Yakobo, olw'omukisa kitaawe gwe yamuwa. Esawu n'agamba mu mutima gwe nti: “Ennaku ez'okukungubagira kitange ng'afudde, zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, nditta muganda wange Yakobo.” Rebbeeka bwe yawulira ebyo Esawu omwana we omukulu by'ateesa okukola, n'atumya Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti: “Laba muganda wo, ateesa okukutta, alyoke yeemale ekiruyi. Kale kaakano, mwana wange, kola kye nkugamba. Situka, oddukire ewa mwannyinaze Labani mu kibuga Harani, obeere naye okumala akaseera, okutuusa obusungu bwa muganda wo lwe bulikkakkana, ne yeerabira kye wamukola. Olwo ndituma ne nkuggyayo. Ssaagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.” Rebbeeka n'agamba Yisaaka nti: “Obulamu bwange bwetamiddwa abakazi Abahiiti! Yakobo bw'aliwasa omukazi Omuhiiti, obulamu bwange buliba bukyangasa ki?” Awo Yisaaka n'ayita Yakobo n'amuwa omukisa, n'amukuutira nti: “Towasanga mukazi Muhiiti. Situka ogende e Paddanaraamu, mu maka ga jjajjaawo Betweli azaala nnyoko, weewasize omukazi ku bawala ba kojjaawo Labani. Katonda Omuyinzawaabyonna akuwe omukisa, ozaale abaana bangi, ofuuke kitaawe w'amawanga amangi. Era akuwe ggwe n'ezzadde lyo omukisa gwe yawa Aburahamu, osikire ensi eno gy'obaddemu, Katonda gye yawa Aburahamu.” Yisaaka n'asindika Yakobo e Paddanaraamu ewa Labani mutabani wa Betweli Omwarameeya era mwannyina Rebbeeka, nnyina Esawu ne Yakobo. Awo Esawu n'amanya nga Yisaaka yawa Yakobo omukisa, era nga yamusindika e Paddanaraamu okwewasizaayo omukazi. Era n'amanya nti bwe yamuwa omukisa, yamukuutira obutawasanga mukazi Mukanaani, era nti Yakobo yawulira kitaawe ne nnyina n'agenda e Paddanaraamu. Esawu bwe yategeera nga kitaawe tasiima bakazi Bakanaani, n'agenda ewa Yisimayeli, omwana wa Aburahamu, n'awasa muwala we Mahalati, mwannyina Nebayooti, n'amwongera ku bakazi be abalala. Yakobo n'ava mu Beruseba, n'ayolekera ekibuga Harani. N'atuuka mu kifo ekimu, n'asula awo, kubanga enjuba yali egudde. N'addira erimu ku mayinja ag'omu kifo ekyo, n'alizizikako omutwe gwe, n'agalamira okwebaka. N'aloota ng'alaba amadaala agasimbiddwa ku ttaka, entikko yaago ng'etuuka mu ggulu, bamalayika ba Katonda nga balinnya, era nga bakka ku go, era Mukama ng'ayimiridde, waggulu waago, ng'agamba nti: “Nze Mukama Katonda wa Aburahamu jjajjaawo, era Katonda wa Yisaaka. Ensi gy'ogalamiddeko ndigikuwa ggwe ne bazzukulu bo. Bazzukulu bo baliba bangi ng'enfuufu ey'oku nsi. Balibuna ebugwanjuba n'ebuvanjuba, n'ebukiikakkono n'ebukiikaddyo, era mu ggwe, ne mu bazzukulu bo, ebika byonna eby'oku nsi, mwe biriweerwa omukisa. Laba, ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga yonna gy'onoogendanga, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okutuukiriza ebyo bye nkugambye.” Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'agamba nti: “Mazima Mukama ali mu kifo kino! Nze mbadde simanyi!” N'atya n'agamba nti: “Ekifo kino nga kya ntiisa! Ekifo kino ddala ye nnyumba ya Katonda, era gwe mulyango gw'eggulu!” Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'akwata ejjinja lye yazizikako omutwe gwe, n'alisimba libe ekijjukizo, n'alifukako omuzigo. N'atuuma ekifo ekyo erinnya Beteli. Naye erinnya ly'ekibuga lyali Luuzi mu kusooka. Awo Yakobo ne yeeyama obweyamo buno eri Mukama nti: “Bw'onoobanga awamu nange, n'onkuumanga mu lugendo lwange luno, era bw'onompanga ebyokulya n'ebyokwambala, era bw'olinkomyawo emirembe mu nnyumba ya kitange, olwo onoobanga Katonda wange. Ejjinja lino lye nsimbye okuba ekijjukizo, liriba nnyumba yo, ayi Katonda, era ndikuwa ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bintu byonna by'olimpa.” Yakobo n'ayongera okutambula, n'atuuka mu nsi y'abantu ab'ebuvanjuba. Bwe yatunula, n'alaba oluzzi mu nnimiro, n'amagana asatu ag'endiga, nga zigalamidde awo awali oluzzi, kubanga mu luzzi omwo, mwe baanywesezanga amagana. Lwalina ejjinja eddene erirusaanikira. Amagana gonna bwe gaakuŋŋaananga, awo abasumba ne bayiringisa ejjinja eryo, ne banywesa endiga, ne balyoka bazzaawo ejjinja okusaanikira oluzzi. Yakobo n'abuuza abasumba nti: “Baganda bange, muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva Harani.” N'ababuuza nti: “Mumanyi Labani, mutabani wa Nahori?” Ne baddamu nti: “Tumumanyi.” N'abuuza nti: “Mulamu?” Ne baddamu nti: “Mulamu, era ne muwala we Raakeeli wuuyo ajja n'endiga.” Yakobo n'agamba nti: “Obudde buubuno bukyali misana, obw'okukuŋŋaanya amagana tebunnatuuka. Munywese endiga, mugende muzirunde.” Ne bagamba nti: “Tetuyinza. Amagana gonna gamala kukuŋŋaanyizibwa, ne tuyiringisa ejjinja okusaanukula oluzzi, ne tulyoka tunywesa endiga.” Yakobo yali akyayogera nabo, Raakeeli n'ajja n'endiga za kitaawe, kubanga ye yazirundanga. Yakobo bwe yalaba Raakeeli muwala wa kojjaawe Labani awamu n'endiga za kojjaawe oyo, n'agenda n'ayiringisa ejjinja okusaanukula oluzzi, n'anywesa endiga za Labani kojjaawe. N'anywegera Raakeeli, n'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka. Yakobo n'ategeeza Raakeeli nti: “Ndi wa luganda ne kitaawo, ndi mwana wa Rebbeeka.” Raakeeli n'adduka okubuulira kitaawe. Awo Labani bwe yawulira nga Yakobo omwana wa mwannyina azze, n'adduka okumusisinkana. N'amugwa mu kifuba, n'amunywegera n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labani byonna. Labani n'agamba nti: “Mazima oli wa musaayi gwange, era wa munda nnyo.” Yakobo n'amala naye omwezi gumu. Labani n'agamba Yakobo nti: “Tojja kumpeererezanga bwereere newaakubadde oli waaluganda. Mbuulira, oyagala mpeera ki?” Labani yalina bawala be babiri, omukulu erinnya lye ye Leeya, omuto nga ye Raakeeli. Amaaso ga Leeya gaali tegasikiriza, naye Raakeeli yali mulungi, n'amaaso ge nga gasanyusa. Yakobo n'ayagala Raakeeli, n'agamba nti: “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Raakeeli muwala wo omuto.” Labani n'agamba nti: “Okumuwa ggwe kisinga okumuwa omusajja omulala. Beera nange.” Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Raakeeli, ne gimulabikira ng'ennaku entono, olw'okwagala kwe yamwagalamu. Awo Yakobo n'agamba Labani nti: “Mpa muwala wo mmuwase, kubanga ekiseera kiweddeko.” Labani n'ayita abantu bonna ab'omu kifo ekyo, n'akola embaga. Naye ekiro ekyo n'addira muwala we Leeya n'amutwalira Yakobo, ne yeegatta naye. Labani n'awaayo omuzaana we Zilupa eri muwala we Leeya, okuba omuzaana we. Enkeera ku makya, Yakobo lwe yamanya nti oyo ye Leeya. N'agamba Labani nti: “Kino kiki ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Raakeeli? Kale lwaki onnimbye?” Labani n'addamu nti: “Tekikolebwa mu nsi yaffe okuwaayo omuto, n'asooka omukulu okufumbirwa. Sooka omaleko ennaku omusanvu ez'oyo, tulyoke tukuwe n'omulala, singa onompeereza nate okumala emyaka emirala musanvu.” Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labani n'amuwa muwala we Raakeeli okuba mukazi we. Labani n'awaayo omuzaana we Biliha eri muwala we Raakeeli, okuba omuzaana we. Yakobo era ne Raakeeli ne yeegatta naye, n'amwagala okusinga Leeya. N'aweereza Labani okumala emyaka emirala musanvu. Mukama bwe yalaba nga Leeya tayagalibwa nga Raakeeli, n'amuwa okuzaala, naye Raakeeli yali mugumba. Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Rewubeeni, kubanga yagamba nti: “Mukama alabye okubonaabona kwange, kaakano baze ananjagala.” N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi n'agamba nti: “Mukama yawulira nga ssaagalibwa kyavudde era ampa omwana ono.” N'amutuuma erinnya Simyoni. N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'agamba nti: “Omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” Kyeyava amutuuma erinnya Leevi. N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi. N'agamba nti: “Omulundi guno nja kutendereza Mukama.” Kyeyava amutuuma erinnya Yuda. N'alekera awo okuzaala. Raakeeli bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, n'akwatirwa muganda we obuggya, n'agamba Yakobo nti: “Mpa abaana, oba si ekyo nja kufa.” Yakobo n'asunguwalira Raakeeli n'agamba nti: “Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma okuzaala abaana?” Raakeeli n'agamba nti: “Omuzaana wange Biliha wuuno, weebake naye, alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye.” N'amuwa Biliha omuzaana we, abe mukazi we. Yakobo ne yeegatta ne Biliha, Biliha n'aba olubuto n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. Raakeeli n'agamba nti: “Katonda asaze omusango ku lwange, era awulidde eddoboozi lyange, n'ampa omwana ow'obulenzi.” Kyeyava amutuuma erinnya Daani. Biliha omuzaana wa Raakeeli, n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookubiri. Raakeeli n'agamba nti: “Mmegganye ne muganda wange ebigwo eby'amaanyi era mpangudde.” N'amutuuma erinnya Nafutaali. Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zilupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo abe mukazi we. Zilupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. Leeya n'agamba nti: “Mbadde wa mukisa!” N'amutuuma erinnya Gaadi. Zilupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookubiri. Leeya n'agamba nti: “Nsanyuse, kubanga abakazi banampitanga musanyufu.” N'amutuuma Aseri. Mu biseera eby'amakungula g'eŋŋaano, Rewubeeni n'alaga mu nnimiro, n'azuulayo ebimera ebiyitibwa mandurake, n'abireetera Leeya, nnyina. Awo Raakeeli n'agamba Leeya nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mandurake g'omwana wo.” Leeya n'amuddamu nti: “Okunzigyako baze tekimala? Kaakano oyagala n'okunzigyako amandurake g'omwana wange?” Raakeeli n'amugamba nti: “Bw'ompa amandurake g'omwana wo, Yakobo aneebaka naawe ekiro kino.” Yakobo bwe yava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'agamba nti: “Ojja kwebaka nange ekiro kino, kubanga mpaddeyo amandurake g'omwana wange okukugula.” Ne yeebaka naye ekiro ekyo. Katonda n'awulira okusaba kwa Leeya. Leeya n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookutaano. Leeya n'agamba nti: “Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange.” N'amutuuma Yissakaari. Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga. Leeya n'agamba nti: “Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi. Kaakano baze ananzisaamu ekitiibwa, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga.” N'amutuuma erinnya Zebbulooni. Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma erinnya Dina. Katonda n'ajjukira Raakeeli. Katonda n'awulira okusaba kwa Raakeeli n'amuwa okuzaala. Raakeeli n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, era n'agamba nti: “Katonda anzigyeeko okuvumibwa.” N'amutuuma erinnya Yosefu ng'agamba nti: “Mukama annyongere omwana omulala ow'obulenzi.” Awo Raakeeli bwe yamala okuzaala Yosefu, Yakobo n'agamba Labani nti: “Nsiibula nzireyo ewaffe, era mu nsi y'ewaffe. Mpa bakazi bange n'abaana bange, be nakuweererezanga, ndyoke ŋŋende, kubanga omanyi bwe nkuweerezza obulungi.” Labani n'amugamba nti: “Singa onzikiriza okwogera kino: ndaguddwa ne nzuula nti Mukama yampa omukisa olw'okubeera ggwe. Nsalira empeera yo, ngikuwe.” Yakobo n'agamba nti: “Ggwe wennyini omanyi bwe nakuweerezanga, era n'amagana go bwe gaali, nga nze ngalabirira. Walina matono nga sinnajja, naye kaakano geeyongedde obungi, era Mukama yakuwa omukisa buli gye nagendanga yonna. Naye kaakano ndifuna ddi nange eby'amaka gange?” Labani n'abuuza nti: “Nnaakuwa ki?” Yakobo n'addamu nti: “Toliiko ky'onompa. Nja kwongera okulabirira amagana go, singa ononkolera kino: Ka mpite mu magana go gonna olwaleero, nga ŋŋenda nzigyamu buli ndiga na buli mbuzi eya bitanga n'ey'amabalabala, na buli ndiga nto enzirugavu. Ezo ze zinaaba empeera yange. Oluvannyuma olimanya oba nga mbadde wa mazima. Bw'olijja okukebera empeera yange, buli mbuzi eteri ya bitanga oba ya mabala, n'endiga eteri nzirugavu bw'erisangibwa nange, eyo eribalibwa nga nzibe.” Labani n'agamba nti: “Kale nzikirizza ky'ogambye.” Naye ku lunaku olwo, Labani n'aggyamu embuzi ennume eza biwuuga n'eza bitanga, n'embuzi enkazi zonna ez'amabalabala n'eza bitanga, n'ezo zonna ezaalina ebbala eryeru, era n'endiga zonna enzirugavu, n'azikwasa batabani be okuzirabirira. N'agenda nazo, ne yeesuula Yakobo ebbanga lya lugendo lwa nnaku ssatu. Yakobo n'alabirira amagana ga Labani agaasigalawo. Yakobo n'addira obuti obw'omupopulaari omubisi n'obw'omulumondi n'obw'omupulaane n'abususumbulako ebikuta ebimu, ne bubaamu ennyiriri enjeru. Obuti obwo bw'asusumbudde, n'abusimba mu maaso g'amagana mu byesero, amagana we gajja okunywa, kubanga ensolo zaawakanga nga zizze okunywa. Awo bwe zaawakanga nga zitunuulidde obuti obwo, nga zizaala eza biwuuga n'ez'amabalabala n'eza bitanga. Yakobo n'ayawula endiga n'embuzi, era ensolo ezo n'azitereeza ne zitunuulira eza biwuuga oba enzirugavu ez'omu ggana lya Labani. Bw'atyo n'ayawula eggana erirye, n'ataligatta na lya Labani. Awo ez'amaanyi bwe zaabanga ziwaka, Yakobo n'ateeka obuti mu byesero mu maaso g'eggana, ziwakire we buli. Naye bwe zaabanga ennafu, teyabuteekangawo. N'olwekyo ensolo enafu ze zaabanga eza Labani, ez'amaanyi nga ze ziba eza Yakobo. Bw'atyo omusajja Yakobo n'afuuka mugagga nnyo, n'aba n'amagana mangi, n'abazaana, n'abaddu, n'eŋŋamiya, n'endogoyi. Awo Yakobo n'awulira batabani ba Labani nga bagamba nti: “Yakobo atutte byonna ebyali ebya kitaffe, era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde obugagga obwo bwonna.” Yakobo era n'alaba nga Labani takyamusanyukira nga bwe yakolanga edda. Mukama n'agamba Yakobo nti: “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, era eri baganda bo, nze nnaabeeranga wamu naawe.” Awo Yakobo n'atumya Raakeeli ne Leeya bajje bamusisinkane mu ddundiro awali amagana ge. N'abagamba nti: “Ndabye nga kitammwe takyansanyukira nga bwe yakolanga edda, naye Katonda wa kitange abadde wamu nange. Mumanyi nga mpeerezza kitammwe n'amaanyi gange gonna. Wabula kitammwe yannimba, n'akyusakyusa empeera yange emirundi kkumi, kyokka Katonda teyamuganya kunkolako kabi. Bwe yagambanga nti: ‘Ez'amabalabala ze zinaaba empeera yo,’ amagana gonna ne gazaala ez'amabalabala. Bwe yagambanga nti: ‘Eza biwuuga ze zinaaba empeera yo,’ amagana gonna ne gazaala eza biwuuga. Bw'atyo Katonda, amagana ga kitammwe yagamuggyako n'agawa nze. “Mu biseera amagana mwe gawakira, naloota, ne ndaba ng'embuzi ennume ezaalinnyira amagana, zaali za biwuuga n'ez'amabalabala, n'eza kiweewoweewo. Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mu kirooto nti: ‘Yakobo!’ Ne ŋŋamba nti: ‘Nzuuno!’ N'aŋŋamba nti: ‘Yimusa amaaso go olabe. Embuzi zonna ennume ezirinnyira amagana, za biwuuga n'eza bitanga n'eza kiweewoweewo, kubanga ndabye byonna Labani by'akukola. Nze Katonda eyakulabikira e Beteli, gye wafukira omuzigo ku jjinja ery'ekijjukizo, era gye wankolera obweyamo. Kaakano situka oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.’ ” Raakeeli ne Leeya ne bamuddamu nti: “Tukyalina omugabo oba obusika mu nnyumba ya kitaffe? Kaakano tatubala ng'abagwira? Yatutunda, era n'ebintu ebyatugula, abiridde n'abimalawo. Obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe bwe bwaffe, era bwe bw'abaana baffe. Kale kaakano kola kyonna Katonda ky'akugambye.” Awo Yakobo n'asituka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamiya, n'atwala amagana ge gonna n'ebintu bye byonna, bye yali afunye mu Paddanaraamu, agende ewa Yisaaka kitaawe, mu nsi ya Kanaani. Labani yali agenze okusalako endiga ebyoya, Raakeeli n'abba balubaale ba kitaawe ab'omu maka. Yakobo n'agenda mu kyama, nga Labani Omwarameeya tamanyi, kubanga teyamubuulira ng'agenda okudduka. Bw'atyo n'adduka n'ebibye byonna, n'asomoka omugga Ewufuraate, n'ayolekera Gileyaadi, ensi ey'ensozi. Ku lunaku olwokusatu, ne babuulira Labani nti Yakobo yadduka. Labani n'atwala ab'ekika kye, n'awondera Yakobo, olugendo lwa nnaku musanvu, n'amutuukako mu Gileyaadi, ensi ey'ensozi. Katonda n'ajjira Labani Omwarameeya ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Weegendereze, oleme kubaako kantu konna k'ogamba Yakobo.” Labani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye mu nsi ey'ensozi. Labani n'agamba Yakobo nti: “Lwaki wannimba n'otwala bawala bange ng'abaanyagibwa mu lutalo? Lwaki wadduka mu kyama, n'onkisa ng'ogenda, n'otombuulira, ndyoke nkusiibule nga tusanyuka era nga tuyimbira ku bitaasa ne ku nnanga? Tewaŋŋanya na kunywegera bazzukulu bange ne bawala bange! Okoze kya busirusiru. Nnina obuyinza okukukolako akabi. Naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro nti: ‘Weegendereze, oleme kubaako kantu konna k'ogamba Yakobo.’ Mmanyi ng'oyagala okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo. Naye lwaki wabba balubaale bange ab'omu maka?” Yakobo n'addamu Labani nti: “Natya, kubanga nalowooza nti ojja kunzigyako bawala bo olw'empaka. Buli gw'onoosanga ne balubaale bo, anattibwa. Wano mu maaso ga baganda baffe, yawulamu buli ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo yali tamanyi nga Raakeeli yabba balubaale ba Labani. Labani n'ayingira n'ayaza mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema y'abazaana bombi, kyokka n'atazuula balubaale be. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu ya Raakeeli. Raakeeli yali atutte balubaale ab'omu maka, n'abateeka mu nsawo ey'oku katebe akatuulwako ku ŋŋamiya, n'abatuulako. Labani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabazuula. Raakeeli n'agamba kitaawe nti: “Ssebo, tosunguwala okulaba nga siyinza kuyimirira mu maaso go, kubanga ndi mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi.” Labani n'anoonya, naye n'atazuula balubaale be ab'omu maka. Yakobo n'asunguwala, n'anenya Labani n'amugamba nti: “Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikunnondooza bw'otyo? Oyazizza ebintu byange byonna. Kiki ku by'omu nnyumba yo ky'ozudde? Kiteeke wano mu maaso g'ab'ekika kyange n'ag'ab'ekika kyo, batusalirewo. Mu myaka egyo amakumi abiri gye mbadde naawe, endiga zo n'embuzi zo enkazi tezisowolanga, era siryanga nnume n'emu ku z'omu magana go. Endiga eyattibwanga ensolo, ssaagikuleeteranga. Eyo nze nagifiirwanga. Eyabbibwanga emisana oba ekiro, wagivunaananga nze. Bwe ntyo bwe nabeeranga. Emisana, omusana gwanzigwerangako. Ekiro, empewo n'enfuuwa, era otulo twambulanga mu maaso. Mu myaka egyo amakumi abiri gye mbadde mu maka go, nakuweerereza emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'amagana go, naye ggwe n'okyusakyusa empeera yange emirundi kkumi. Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Aburahamu era Katonda wa Yisaaka teyabeeranga wamu nange, kaakano tewandiremye kungoba nga sirina kantu. Naye Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kwange, n'akunenya mu kiro ekyayise.” Labani n'addamu Yakobo nti: “Abawala bano, bawala bange, n'abaana baabwe, bange, era n'amagana gano gange. Ne byonna by'olaba wano byange. Naye olwaleero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba abaana be baazaala? Kale nno kaakano, tukole endagaano nze naawe, ebeerenga omujulirwa wakati wo nange.” Awo Yakobo n'addira ejjinja n'alisimba, libe ekijjukizo. N'agamba ab'ekika kye nti: “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne baddira amayinja ne bagatuuma entuumu, ne baliira awo okumpi n'entuumu. Labani n'agituuma erinnya Yegari Sahaduta, naye Yakobo n'agituuma Galeedi. Labani n'agamba nti: “Entuumu eno ye mujulirwa wakati wo nange olwaleero.” Kyeyava etuumibwa erinnya Galeedi era Mizupa, kubanga Labani yagamba nti: “Mukama alamulenga wakati wo nange bwe tuliba nga tetukyalabagana. Bw'onoobonyaabonyanga bawala bange, oba bw'oliwasa abakazi abalala awali bawala bange, wadde tewaliba muntu mulala ali naffe, jjukira nga Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.” Labani n'agamba Yakobo nti: “Laba entuumu eno ey'amayinja n'empagi eno gye nsimbye wakati wo nange. Entuumu eno n'empagi eno binaabanga abajulirwa baffe, nga nze siriyita ku ntuumu eno kukulumba, era naawe nga toliyita ku ntuumu eno ne ku mpagi eno kunnumba. Katonda wa Aburahamu era Katonda wa Nahori, Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe.” Yakobo n'alayira Katonda wa kitaawe Yisaaka, ng'anaakuumanga endagaano eyo. Yakobo n'aweerayo ekitambiro ku lusozi, n'ayita ab'oku ludda lwe okulya emmere. Ne balya. Ne bamala ekiro kyonna ku lusozi. Enkeera mu makya Labani n'agolokoka, n'anywegera bazzukulu be ne bawala be n'abasabira omukisa, n'asitula okuddayo ewuwe. Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. Yakobo bwe yabalaba, n'agamba nti: “Lino lye ggye lya Katonda.” N'atuuma ekifo ekyo erinnya Mahanayimu. Awo Yakobo n'atuma ababaka okumukulemberamu eri Esawu muganda we, mu nsi ya Seyiri, mu kitundu eky'e Edomu. N'abalagira nti: “Mugambe mukama wange Esawu nti Yakobo omuweereza wo agamba nti: ‘Nabeeranga ne Labani, era mbadde naye okutuusa kaakano. Era nnina ente n'endogoyi n'amagana g'endiga n'embuzi, n'abaddu n'abazaana. Era ntumye okukutegeeza mukama wange, olyoke onkwatirwe ekisa.’ ” Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bagamba nti: “Twagenda eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana ng'ali n'abasajja ebikumi bina.” Yakobo n'atya nnyo, ne yeeraliikirira. N'ayawulamu ebibinja bibiri mu bantu abaali naye, ne mu magana g'endiga n'embuzi n'ente n'eŋŋamiya. N'agamba nti: “Esawu bw'anaatuukira ku kibinja ekimu n'akikuba, ekibinja ekinaasigalawo kinaawona.” Awo Yakobo n'agamba nti: “Ayi Katonda wa jjajjange Aburahamu, era Katonda wa kitange Yisaaka, ayi Mukama ggwe eyaŋŋamba nti: ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, ndikuluŋŋamiza buli kintu,’ sisaanira n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yorudaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibinja bibiri. Nkwegayiridde, mponya muganda wange Esawu kubanga mmutya, sikulwa ng'ajja n'atutta ffenna, nga tataliza na bakazi wadde abaana. Naye wagamba nti: ‘Ndikuluŋŋamiza buli kantu, era ndikuwa abazzukulu bangi ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutayinza kubalika olw'obungi.’ ” Yakobo n'asula awo ekiro ekyo, n'atoola ku bye yalina awe Esawu muganda we ekirabo: embuzi enkazi ebikumi bibiri, n'ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, n'ennume amakumi abiri. Eŋŋamiya ezikamibwa amata amakumi asatu n'abaana baazo, ente enkazi amakumi ana, n'eza sseddume kkumi, endogoyi enkazi amakumi abiri, n'ennume kkumi. N'azikwasa abaddu be, buli ggana nga liri lyokka, n'abagamba nti: “Munkulemberemu, era mulekeewo ebbanga wakati w'eggana erimu n'eggana eddala.” N'alagira eyakulemberamu nti: “Muganda wange Esawu bw'anaakusisinkana n'akubuuza nti: ‘Oli w'ani, era ogenda wa? N'ensolo ezo ezikukulembeddemu z'ani?’ Oddamu nti: ‘Za muweereza wo Yakobo. Kye kirabo ky'aweerezza mukama wange Esawu. Era Yakobo yennyini atuvaako mabega.’ ” Era n'alagira n'owookubiri, n'owookusatu, n'abalala bonna abaagoba amagana, n'abagamba nti: “Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamusisinkana. Munaagamba nti: ‘Ddala omuweereza wo Yakobo atuvaako mabega!’ ” Yakobo yagamba nti: “Nja kumuwooyawooya n'ekirabo ekinankulemberamu, olwo bwe nnaamusisinkana, oboolyawo anannyaniriza.” Awo ekirabo ne kimukulemberamu, kyokka ye n'asula awo mu lusiisira ekiro ekyo. Yakobo n'agolokoka ekiro ekyo, n'atwala bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomoka Omugga Yabboki. N'abatwala, n'abasomosa omugga era n'asomosa ne byonna bye yalina. Kyokka ye n'asigalayo yekka. Awo omusajja n'ajja, n'ameggana naye, okutuusa emmambya lwe yasala. Omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoona ku bbunwe, bbunwe wa Yakobo n'awogoka ng'ameggana naye. N'agamba Yakobo nti: “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'agamba nti: “Sijja kukuta wabula ng'ompadde omukisa.” Omusajja n'amubuuza nti: “Erinnya lyo gwe ani?” N'addamu nti: “Yakobo.” Omusajja n'agamba nti: “Tokyayitibwanga Yakobo, wabula YISIRAYELI, kubanga omegganye ne Katonda era n'abantu, era owangudde.” Yakobo n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Naye oli n'addamu nti: “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'aweera Yakobo omukisa mu kifo ekyo. Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penweli, ng'agamba nti: “Ndabaganye ne Katonda maaso na maaso, ne nsigala nga ndi mulamu!” Enjuba n'emwakako, ng'ava e Penweli, ng'awenyera, olwa bbunwe we. N'okutuusa kati Abayisirayeli kyebava batalya ekinywa ekiri ku bbunwe, kubanga ku kinywa ekyo, omusajja kwe yakoona Yakobo. Awo Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Esawu ng'ajja ng'ali wamu n'abasajja ebikumi bina. Yakobo n'agabanyaamu abaana, wakati wa Leeya ne Raakeeli, n'abazaana bombi. N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'asembyayo Raakeeli ne Yosefu emabega. Ye yennyini n'abakulemberamu, n'avuunama ku ttaka emirundi musanvu nga bw'asemberera muganda we. Naye Esawu n'adduka okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amuwambaatira, n'amunywegera, bombi ne bakaaba amaziga. Esawu bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana, n'abuuza nti: “Baani bano abali naawe?” Yakobo n'addamu nti: “Abo be baana, Katonda olw'ekisa kye be yawa omuweereza wo.” Awo abazaana ne basembera nga bali wamu n'abaana baabwe, ne bavuunama. Era ne Leeya n'abaana be, ne basembera, ne bavuunama. Oluvannyuma Yosefu ne Raakeeli nabo ne basembera, ne bavuunama. Naye Esawu n'agamba nti: “Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye, kitegeeza ki?” Yakobo n'addamu nti: “Kya kwagala kusiimibwa mu maaso go, mukama wange.” Naye Esawu n'agamba nti: “Bye nnina bimmala, muganda wange. By'olina bibe bibyo.” Yakobo n'agamba nti: “Nedda, nkwegayiridde! Bwe mba nga nsiimiddwa mu maaso go, kkiriza ekirabo ekiva mu ngalo zange, kubanga ndabye amaaso go, ne mba ng'omuntu bwe yandirabye amaaso ga Katonda, n'onsanyukira. Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyonna kye nkuleetedde, kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, n'ampa byonna bye neetaaga.” N'amwegayirira, Esawu n'akkiriza. Awo Esawu n'agamba nti: “Tukwate ekkubo, tugende, nze nja kukukulemberamu.” Yakobo n'addamu nti: “Mukama wange, omanyi ng'abaana bakyali bato, tebannafuna maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange, ziyonsa. Bwe banaazigoba ennyo wadde olunaku olumu, amagana gonna gajja kufa. Nkwegayiridde mukama wange, ggwe kulembera, nange omuweereza wo, najja mpolampola nga bwe nnaasobola okutambula n'ensolo ze nkulembezzaamu era n'abaana, nkutuukeko mu Seyiri.” Esawu n'agamba nti: “Kale ka nkulekere ku bantu abali nange.” Kyokka Yakobo n'agamba nti: “Ekyo tekyetaagisa, bwe mba nga nsiimiddwa mu maaso go, mukama wange.” Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo e Seyiri. Naye Yakobo n'agenda e Sukkoti ne yeezimbirayo ennyumba, era n'akolera ensolo ze engo. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa erinnya Sukkoti. Yakobo bwe yava e Paddanaraamu, n'atuuka mirembe mu kibuga kye Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanaani, n'asiisira okumpi n'ekibuga. N'agula ettaka ku bazzukulu ba Hamori kitaawe wa Sekemu, ebitundu kikumi ebya ffeeza, n'asimba eweema ye. N'azimbayo alutaari n'agituuma erinnya ELI ELOWE YISIRAYELI. Awo Dina, omuwala Leeya gwe yazaalira Yakobo, n'agenda okukyalira abawala Abakanaani. Sekemu, mutabani wa Hamori Omuhiivi, omukulu w'ensi eyo, bwe yamulaba n'amukwata lwa mpaka, ne yeegatta naye, n'amukuza. Omutima gwe ne gusikirizibwa nnyo Dina, muwala wa Yakobo, n'amwagala nnyo, era n'ayogera naye n'ekisa. Sekemu n'agamba Hamori nti: “Mpasiza omuwala oyo.” Yakobo n'awulira nga Sekemu yasobya ku Dina muwala we, naye kubanga batabani be baali n'ensolo ze mu ddundiro, n'asirika okutuusa lwe badda. Hamori kitaawe wa Sekemu n'afuluma, n'agenda eri Yakobo okwogera naye. Batabani ba Yakobo ne bakomawo nga bava mu ddundiro. Bwe baakiwulira, ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga Sekemu yali akoze eky'omuzizo mu Bayisirayeli, bwe yeebaka ne muwala wa Yakobo olw'empaka, ekitagwanira kukola. Hamori n'ayogera nabo nti: “Mutabani wange Sekemu ayagala muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase. Era mufumbiriganwenga naffe, mutuwenga abawala bammwe, nammwe muwasenga abawala abaffe. Munaabeeranga wamu naffe mu nsi yaffe, mubeerenga we mwagala, musuubulirenga muno, mwefunire ebintu.” Sekemu n'agamba kitaawe wa Dina ne bannyina nti: “Singa nsiimibwa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nnaakibawa. Ebintu eby'obuko, n'ebirabo bye munansalira, ne bwe binenkana wa obungi, nnaabiwa, kasita mumpa omuwala okumuwasa.” Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Hamori nga bakuusa, kubanga Sekemu yali asobezza ku Dina mwannyinaabwe. Ne bagamba nti: “Tetuyinza kukola ekyo: okuwa mwannyinaffe omusajja atali mukomole, kubanga ekyo kyandibadde kya nsonyi gye tuli. Tunaabakkiriza lwa kino kyokka: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mu mwe okukomolebwa. Olwo tunakkiriza okubawanga abawala abaffe, naffe okuwasanga abawala abammwe. Tunaabeeranga wamu nammwe, ne tufuuka eggwanga limu. Naye bwe mutakkirize kyaffe ne mukomolebwa, tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda.” Ebigambo byabwe ne bisanyusa Hamori ne mutabani we Sekemu. Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo, yalina ekitiibwa okusinga abalala bonna ab'ennyumba ya kitaawe. Hamori ne Sekemu mutabani we, ne bajja mu kifo ekikuŋŋaanirwamu ku mulyango gw'ekibuga kyabwe, ne boogera n'abasajja ab'omu kibuga ekyo, nga bagamba nti: “Abasajja abo, tebaagala kutulwanyisa. Tubaleke babeerenga mu nsi eno wamu naffe, era basuubulirengamu, kubanga ensi ngazi ekimala. Ffe tuwasenga abawala abaabwe, nabo tubawenga abawala abaffe. Naye abasajja abo, bajja kukkiriza okubeeranga awamu naffe, okufuuka eggwanga erimu naffe, lwa kino kyokka: buli musajja mu ffe bw'anaakomolebwanga nga bo bwe bakomolebwa. Ente zaabwe n'ebintu byabwe, n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? Kale tukkiriziganye nabo, babeerenga wamu naffe.” Abasajja bonna abaaliwo ku mulyango gw'ekibuga, ne bakkiriza ebya Hamori ne Sekemu mutabani we, buli musajja n'akomolebwa. Awo ku lunaku olwokusatu, abasajja bwe baali nga balumwa ebiwundu, batabani ba Yakobo babiri, Simyoni ne Leevi bannyina ba Dina, ne bakwata ebitala byabwe, ne bazinduukiriza ekibuga ne batta abasajja bonna. Ne battiramu Hamori ne mutabani we Sekemu, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne bavaayo. Batabani ba Yakobo abalala bwe baasanga nga babasse, ne banyaga eby'omu kibuga nga beesasuza olwa mwannyinaabwe eyasobezebwako. Ne banyaga endiga n'embuzi n'endogoyi, n'ebintu byonna ebyali mu kibuga n'ebyali mu nnimiro. Era ne batwala ebyobugagga byonna, ne banyaga abaana bonna abato n'abakazi bonna, ne byonna ebyali mu mayumba. Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti: “Mundeetedde omutawaana! Kaakano Abakanaani n'Abaperizi n'abalala bonna ab'omu nsi eno bajja kunkyawa. Nnina abantu batono. Kale singa bali bonna balyekuŋŋaanya ne bannumba, balinsaanyaawo n'amaka gange gonna.” Naye bo ne baddamu nti: “Yakola kirungi okuyisa mwannyinaffe nga malaaya?” Katonda n'agamba Yakobo nti: “Situka oyambuke e Beteli, obeere eyo, onzimbireyo alutaari, nze Katonda eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.” Awo Yakobo n'agamba ab'omu nnyumba ye, n'abo bonna abaali naye nti: “Muggyeewo balubaale abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebiyonjo, tusituke, twambuke e Beteli, era eyo Katonda nja kumuzimbirayo alutaari, kubanga yannyamba mu kiseera mwe nabeerera mu buzibu, era yabanga nange buli we nagendanga.” Ne bawa Yakobo balubaale bonna be baalina, n'empeta ezaali mu matu gaabwe. Yakobo n'abiziika wansi w'omuti okumpi ne Sekemu. Yakobo n'abaana be bwe baatambula, entiisa ennene n'ekwata ab'omu bibuga ebibeetoolodde, ne batabawondera. Awo Yakobo awamu n'abantu be bonna abaali naye, ne batuuka e Luuzi, ye Beteli, ekiri mu nsi ya Kanaani. N'azimbayo alutaari n'agituuma erinnya Eli Beteli, kubanga eyo Katonda gye yeeyolekera Yakobo, bwe yadduka muganda we. Debora omulezi wa Rebbeeka n'afa, ne bamuziika mu bukiikaddyo obwa Beteli, wansi w'omuti. Omuti ogwo ne bagutuuma erinnya Alooni Bakuti. Yakobo bwe yava mu Paddanaraamu, Katonda n'amulabikira nate, n'amuwa omukisa, Katonda n'amugamba nti: “Erinnya lyo ggwe Yakobo. Naye okuva kati, Yisirayeli lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Yisirayeli. Katonda n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinzawaabyonna. Zaala abaana bangi. Eggwanga n'ekibiina eky'amawanga birisibuka mu gwe, era oliba jjajja wa bakabaka. Era ensi gye nawa Aburahamu ne Yisaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa ne bazzukulu bo abaliddawo.” Katonda n'ava awali Yakobo, Yakobo n'asimba empagi ey'amayinja mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, n'agifukako ekiweebwayo ekinywebwa, era n'omuzigo. Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Beteli. Awo Yakobo n'ab'omu maka ge ne bava mu Beteli, ne batambula. Baali babulako katono okutuuka mu Efuraati, ebiseera bya Raakeeli eby'okuzaala ne bituuka, n'alumwa nnyo. Awo bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti: “Totya kubanga ogenda kuzaala omwana ow'obulenzi omulala.” Bwe yali ng'anaatera okufa, n'atuuma omwana erinnya Benoni. Naye kitaawe n'amutuuma Benyamiini. Raakeeli n'afa, ne bamuziika ku kkubo erigenda e Efuraati, ye Betilehemu. Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge. Empagi eyo ye eramba amalaalo ga Raakeeli n'okutuusa kati. Yisirayeli ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n'asimba eweema ye ng'ayisizza omunaala gwa Ederi. Awo Yisirayeli bwe yali ng'akyali mu nsi eyo, Rewubeeni n'agenda ne yeebaka ne Biliha omuzaana wa kitaabwe, Yisirayeli n'akimanya. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri: Batabani ba Leeya be bano: Rewubeeni omwana wa Yakobo omubereberye, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Yissakaari, ne Zebbulooni. Batabani ba Raakeeli: Yosefu ne Benyamiini. Batabani ba Biliha, omuzaana wa Raakeeli: Daani ne Nafutaali. Batabani ba Zilupa, omuzaana wa Leeya: Gaadi ne Aseri. Abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa mu Paddanaraamu. Awo Yakobo n'ajja eri kitaawe Yisaaka e Mamure mu kibuga Asaba, ye Heburooni, Aburahamu ne Yisaaka mwe baabeeranga. Yisaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana, n'afa ng'akaddiye nnyo, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Abaana be Esawu ne Yakobo ne bamuziika. Bano be bazzukulu ba Esawu, era ayitibwa Edomu. Esawu yawasa abakazi Abakanaani, Ada muwala wa Eloni Omuhiiti, ne Oholibama muwala wa Ana, muwala wa Zibiyoni omuhiivi, ne Basemati muwala wa Yisimayeli mwannyina Nabayooti. Ada n'azaala Elifaazi, ne Basemati n'azaala Reweli. Ne Oholibama n'azaala Yewusi ne Yolamu ne Koora. Abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanaani. Awo Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be n'abantu bonna ab'omu maka ge, n'ensolo ze zonna, n'ebintu bye byonna bye yafunira mu nsi ya Kanaani, n'agenda mu nsi endala, n'aviira muganda we Yakobo, kubanga baalina ebintu bingi nnyo, nga tebayinza kubeera wamu. Ensi mwe baabeeranga yali tekyayinza kubamala olw'amagana amangi ge baalina. Esawu n'abeera mu nsi Seyiri ey'ensozi. Bano be bazzukulu ba Esawu, jjajja wa Abeedomu mu nsi Seyiri ey'ensozi. Gano ge mannya ga batabani ba Esawu: Elifaazi omwana wa Ada muka Esawu, ne Reweli omwana wa Basemati era muka Esawu. Batabani ba Elifaazi be bano: Temani, Omari, Zefo, Gatamu ne Kenazi. Elifaazi mutabani wa Esawu yalina Timuna omuzaana, eyamuzaalira Amaleki. Abo be baana abaasibuka mu Ada muka Esawu. Bano be batabani ba Reweli: Nakati ne Zeera, Samma ne Mizza. Abo be baana abaasibuka mu Basemati muka Esawu. Bano be baana Oholibama muwala wa Ana, omwana wa Zibiyoni be yazaalira Esawu, bba: Yewusi, ne Yalamu ne Koora. Bano be bakulu b'ennyumba z'abazzukulu ba Esawu. Batabani ba Elifaazi, omwana omubereberye owa Esawu, be bano: Temani, ne Omari, ne Zefo, ne Kenazi, ne Koora, ne Gatamu, ne Amaleki. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Elifaazi mu nsi ya Edomu, era bazzukulu ba Ada. Bano be batabani ba Reweli omwana wa Esawu: Nakati, ne Zeera ne Samma, ne Mizza. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Reweli mu nsi ya Edomu, era be bazzukulu ba Basemati muka Esawu. Bano be batabani ba Oholibama muka Esawu: Yewusi, ne Yalamu, ne Koora. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Oholibama, muwala wa Ana era muka Esawu. Abo be bazzukulu ba Esawu ayitibwa Edomu, era abo be bakulu b'ennyumba z'abamusibukamu. Bano be baana ba Seyiri Omuhoori, abatuuze b'omu nsi ya Edomu: Lotani, ne Sobali ne Zibiyoni ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri, ne Disani. Abo be bakulu b'ennyumba z'Abahoori era be baana ba Seyiri, mu nsi ya Edomu. Abaana ba Lotani be bano: Ori ne Hemami. Mwannyina Lotani ye Timuna. Abaana ba Sobali be bano: Aluvani ne Menehati ne Ebali, Sefo ne Onamu. Abaana ba Zibiyoni be bano: Aya ne Ana. Ana oyo ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya, bwe yali ng'alunda endogoyi za Zibiyoni kitaawe. Bano be baana ba Ana: Disoni ne Oholibama omuwala. Abaana ba Disoni be bano: Hemudaani, ne Esubaani, ne Yituraani ne Kerani. Abaana ba Ezeri be bano: Bilihaani ne Zaavani ne Akani. Abaana ba Disani be bano: Wuzi ne Arani. Bano be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Bahoori: Lotani ne Sobali, ne Zibiyoni ne Ana, ne Disoni ne Ezeri ne Disani. Abo be bakulu b'ennyumba z'Abahoori ng'ebika byabwe bwe byali mu nsi ya Seyiri. Bano be bassekabaka abaafuga mu nsi ya Edomu nga tewannabaawo kabaka n'omu afuga Bayisirayeli. Bela mutabani wa Beyori n'afuga mu Edomu, era ekibuga kye nga kiyitibwa Dinuhaba. Bela n'afa, Yobabu mutabani wa Zeera ow'e Bozira n'alya obwakabaka mu kifo kye. Yobabu n'afa, Husamu ow'omu nsi y'Abatemani n'alya obwakabaka mu kifo kye. Husamu n'afa Hadadi mutabani wa Bedadi eyawangula Midiyaani mu nsi ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye, era ekibuga kye nga kiyitibwa erinnya Aviti. Hadadi n'afa, Samula ow'e Masureeka n'alya obwakabaka mu kifo kye. Samula n'afa, Sawuuli ow'e Rehoboti ekiri okumpi n'Omugga Ewufuraate n'alya obwakabaka mu kifo kye. Sawuuli n'afa, Baalikanaani mutabani wa Akuboori n'alya obwakabaka mu kifo kye. Baalikanaani mutabani wa Akuboori n'afa, Hadari n'alya obwakabaka mu kifo kye, era ekibuga kye nga kiyitibwa erinnya Pawu. Erinnya lya mukazi we ye Mehetabeli, muwala wa Maturedi, muwala wa Mezahaabu. Bano be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Esawu, ng'ebika byabwe n'ebifo byabwe n'amannya gaabwe bwe biri, Timuna, Aluva, Yeteti, Oholibama, Ela, Pinoni. Kenazi, Temani, Mibuzaari, Mugadyeli ne Yiramu. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Edomu, kwe kugamba Esawu, jjajja wa Abeedomu, nga bwe baali mu nsi gye baafuna. Yakobo n'abeeranga mu nsi ya Kanaani, kitaawe mwe yabeeranga. Bino bye bifa ku maka ga Yakobo: Yosefu bwe yali nga muvubuka wa myaka kkumi na musanvu, n'alundanga endiga ne baganda be abaana ba Biliha ne Zilupa, baka kitaawe. Yosefu n'aloopanga eri kitaawe ebibi bye baakolanga. Yisirayeli yayagalanga Yosefu okusinga abaana be abalala bonna, kubanga gwe yazaala mu bukadde. N'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi. Baganda ba Yosefu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bw'ayagala bo bennyini, ne bamukyawa, ne batayinza kwogeranga naye bya mirembe. Awo Yosefu n'aloota ekirooto. Bwe yakibuulira baganda be, ne beeyongera okumukyawa. N'abagamba nti: “Muwulire ekirooto kino kye naloose. Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.” Baganda be ne bamugamba nti: “Olowooza nti ggwe olifuuka kabaka waffe, oba nti ggwe olitufuga?” Ne beeyongera okumukyayira ddala olw'ebirooto bye, n'olw'ebigambo bye. Yosefu era n'aloota ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be, n'agamba nti: “Naloose ekirooto ekirala, mwe nalabidde enjuba n'omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binvuunamira.” N'akibuulira ne kitaawe. Kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti: “Kirooto ki kino kye waloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo, ffe tulijja ne tukuvuunamira?” Baganda ba Yosefu ne bamukwatirwa obuggya, naye kitaawe n'akuumanga ebyo Yosefu bye yayogera. Awo baganda ba Yosefu bwe baali bagenze e Sekemu okulunda eggana lya kitaabwe, Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Baganda bo bali Sekemu, gye balundira eggana. Jjangu nkutume gye bali.” Yosefu n'amuddamu nti: “Nzuuno.” Kitaawe n'amugamba nti: “Genda kaakano olabe oba nga baganda bo bali bulungi, era oba nga n'eggana liri bulungi, okomewo ombuulire.” Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Heburooni. Yosefu n'atuuka e Sekemu. Omusajja n'amusanga ng'atambuliratambulira mu ttale, n'amubuuza nti: “Onoonya ki?” Yosefu n'addamu nti: “Nnoonya baganda bange. Nkwegayiridde, mbuulira gye balundira eggana.” Omusajja n'agamba nti: “Baagenda, kubanga nabawulira nga bagamba nti: ‘Tugende e Dotani.’ ” Awo Yosefu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dotani. Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne bamwekobera okumutta. Ne bagambagana nti: “Ssekalootera wuuyo ajja. Kale mujje tumutte tumusuule mu bumu ku bunnya. Tuligamba nti: ‘Ensolo enkambwe ye yamulya,’ tulabe ebirooto bye bwe biriba.” Rewubeeni bwe yawulira ekyo, n'afuba okuwonya Yosefu n'agamba nti: “Tuleme okumutta.” Rewubeeni era n'agamba nti: “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala abamuwonye, amuddize kitaawe. Yosefu bwe yatuuka ku baganda be, ne bamwambulamu ekyambalo kye eky'amabala amangi, kye yali ayambadde, ne bamutwala, ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga temuli mazzi. Bwe baali nga balya, ne bayimusa amaaso gaabwe, ne balengera ekibinja ky'Abayisimayeli abava mu Gileyaadi nga balina eŋŋamiya ezeetisse envumbo n'ebyobuwoowo ebiyitibwa baamu ne mirra, nga babitwala mu Misiri. Yuda n'agamba nti: “Kiritugasa ki okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe? Kale tumutunde mu Bayisimayeli, ffe tuleme kumukolako kabi, kubanga muganda waffe, era musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza. Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yosefu ne basika Yosefu ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu Bayisimayeli abo ebitundu amakumi abiri ebya ffeeza. Abo ne batwala Yosefu mu Misiri. Rewubeeni bwe yaddayo ku bunnya n'asanga nga Yosefu taliimu, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala. N'addayo eri baganda be, n'agamba nti: “Omwana taliiyo. Kale nze nadda wa?” Awo ne batta embuzi ennume, ne bannyika ekyambalo kya Yosefu mu musaayi gwayo. Ne baweereza ekyambalo ekyo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe, ne bagamba nti: “Twazuula kino. Kaakano laba oba nga kye kyambalo ky'omwana wo.” Yakobo n'akitegeera, n'agamba nti: “Kye kyambalo eky'omwana wange. Ensolo ey'omu ttale yamulya. Awatali kubuusabuusa, Yosefu yataagulwataagulwa!” Yakobo n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ekikutiya mu kiwato, n'amala ennaku nnyingi ng'akungubagira omwana we. Batabani be bonna ne bawala be ne bajja okumukubagiza, naye n'agaana okukubagizibwa, n'agamba nti: “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba!” N'ayongera okumukaabira amaziga. Mu kiseera ekyo, Abamidiyaani baali batunze Yosefu mu Misiri, nga bamuguzizza Potifaari omukungu wa kabaka w'e Misiri, era omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri. Awo mu biro ebyo, Yuda n'ava mu baganda be, n'agenda n'omusajja Omwadulaamu, erinnya lye Hira. Yuda n'alabayo omuwala azaalibwa Omukanaani. Erinnya ly'Omukanaani oyo lyali Suuwa. Yuda n'awasa omuwala oyo ow'Omukanaani, omuwala n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi, Yuda n'amutuuma erinnya Eri. N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Onani. Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seela. Yuda yali agenze Kezibu omulenzi okuzaalibwa. Yuda n'awasiza Eri, omwana we omubereberye, omukazi, erinnya lye Tamari. Naye Eri, omwana omubereberye owa Yuda, yali wa mpisa mbi mu maaso ga Mukama, Mukama n'amutta. Yuda n'agamba Onani nti: “Twala nnamwandu wa muganda wo, nga muganda wa bba bw'agwanira okukola, ofunire muganda wo abaana.” Awo Onani n'ategeera ng'abaana tebaliba babe. Bwe yeebakanga ne nnamwandu wa muganda we, amazzi n'agafukanga wansi aleme okufunira muganda we abaana. Kye yakola ne kitasanyusa Mukama. N'oyo Mukama n'amutta. Yuda n'agamba Tamari muka mwana we nti: “Sigala ng'oli nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa mutabani wange Seela lw'alimala okukula.” Yayogera bw'atyo, kubanga yatya nti n'oyo naye ajja kufa nga baganda be. Awo Tamari n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe. Bwe waayitawo ekiseera, muka Yuda, muwala wa Suuwa n'afa. Ebiseera eby'okukungubaga bwe byaggwaako, Yuda ne mukwano gwe Hira Omwadulaamu ne bambuka e Timuna, eri basajja be abasalako endiga ebyoya. Ne babuulira Tamari nti: “Ssezaala wo ayambuka e Timuna okusalako endiga ze ebyoya.” Ne yeeyambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu, n'asiba ekitambaala ku mutwe, ne yeebikka mu maaso, n'atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekibuga ekiri ku kkubo erigenda e Timuna. Yakola bw'atyo kubanga yalaba nga Seela amaze okukula ne batamumuwa kumufumbirwa. Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nti malaaya, kubanga yali yeebisse mu maaso. N'agenda gy'ali ku mabbali g'ekkubo, n'agamba nti: “Jjangu neebake naawe,” nga tamanyi nti ye muka mwana we. N'agamba nti: “Onompa ki olyoke weebake nange?” Yuda n'addamu nti: “Nnaakuweereza embuzi ento, okuva mu ggana lyange.” N'agamba nti: “Onompa omusingo okutuusa lw'onoogiweereza?” N'agamba nti: “Musingo ki gwe mba nkuwa?” N'addamu nti: “Akabonero ko, n'omuyondo gwo, n'omuggo gwo oguli mu ngalo zo.” N'abimuwa. Ne yeegatta naye. N'amufunyisa olubuto. Tamari n'asituka n'agenda, ne yeggyako ekitambaala ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obwannamwandu. Yuda n'atuma mukwano gwe Omwadulaamu okutwalira omukazi embuzi ento, n'okuggyayo omusingo, kyokka n'atamulaba. N'abuuza abasajja ab'omu Enayimu nti: “Omukazi malaaya eyali wano ku kkubo ali ludda wa?” Ne baddamu nti: “Tewabanga mukazi malaaya wano.” N'addayo eri Yuda, n'agamba nti: “Simulabye, era n'abasajja ab'omu kifo ekyo bagambye nti: ‘Tewabanga mukazi malaaya wano.’ ” Yuda n'agamba nti: “Ebintu k'abyesigalize, tuleme kusekererwa, kavuna naweereza embuzi eyo ento, ggwe n'otomuloba.” Bwe waayitawo emyezi ng'esatu, ne babuulira Yuda nti: “Tamari muka mwana wo, yakola obwamalaaya, era kati ali lubuto.” Yuda n'agamba nti: “Mumufulumye ayokebwe.” Bwe baali nga bamufulumya, n'atumira ssezaala we, nti: “Omusajja nnannyini bintu bino, ye yanfunyisa olubuto. Nkwegayiridde, weetegereze. By'ani bino: akabonero, n'omuyondo, n'omuggo?” Yuda n'abitegeera, n'agamba nti: “Asinze, ye ye mutuufu, kubanga saamuwa Seela mutabani wange.” Yuda n'ataddayo kwebaka naye mulundi mulala. Awo ekiseera kye eky'okuzaala bwe kyatuuka, ne kimanyika nga yali agenda kuzaala balongo. Bwe yali ng'alumwa okuzaala, omu n'afulumya ekibatu kye. Omuzaalisa n'akikwata, n'akisibako akawuzi akamyufu ng'agamba nti: “Ono ye asoose okufuluma.” Naye n'azzaayo ekibatu kye, muganda we n'afuluma. Omuzaalisa n'agamba nti: “Bw'otyo bw'owaguzza?” Kyeyava atuumibwa erinnya Pereezi. Oluvannyuma muganda we n'afuluma ng'alina akawuzi akamyufu ku kibatu kye n'atuumibwa erinnya Zeera. Yosefu ne bamuserengesa mu Misiri, Potifaari Omumisiri, omukungu wa kabaka w'e Misiri, era omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri, n'amugula ku Bayisimayeli abaamuserengesaayo. Mukama n'aba wamu ne Yosefu, Yosefu n'aba wa mukisa mu byonna by'akola, n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri, eyalaba nga Mukama ali ne Yosefu era ng'amuwa omukisa mu buli ky'akola. Potifaari n'asiima Yosefu, n'amufuula omuweereza we owenjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna. Okuva olwo amaka g'Omumisiri n'ebibye byonna, bye yalina mu nnyumba ye, ne mu nnimiro ze, Mukama n'abiwa omukisa. Potifaari n'alekera Yosefu ebibye byonna okubirabiriranga, nga takyeraliikirira kintu kye na kimu, wabula emmere gye yalyanga. Yosefu yali mulungi mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa. Bwe waayitawo ekiseera, muka mukama we n'amusuuliza amaaso, n'agamba nti: “Weebake nange.” Naye Yosefu n'agaana, n'agamba muka mukama we nti: “Laba, mukama wange takyeraliikirira kintu kye na kimu mu nnyumba, kubanga nze wendi, era yandekera ebibye byonna okubirabirira. Nnina obuyinza mu maka gano obwenkanankana n'obubwe, era talina ky'atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo, ne nsobya eri Katonda?” Newaakubadde ng'omukazi oyo yagambanga Yosefu buli lunaku, naye Yosefu yagaana okwebaka naye wadde okubeera naye. Naye lwali lumu, Yosefu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye, era nga tewali baweereza ba mu nnyumba balala. Omukazi n'akwata Yosefu ekyambalo, ng'amugamba nti: “Weebake nange.” Naye Yosefu n'aleka ekyambalo kye mu ngalo z'omukazi, n'adduka n'afuluma ebweru. Omukazi bwe yalaba nga Yosefu alese ekyambalo kye mu ngalo ze, n'adduka n'afuluma ebweru, n'ayita abaweereza ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti: “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebureeyi okutujooga. Ayingidde gye ndi okwebaka nange, ne ndeekaana nnyo. Bw'awulidde nga nkubye enduulu n'andekera ekyambalo kye, n'adduka n'afuluma ebweru.” Omukazi n'atereka ekyambalo kya Yosefu okutuusa mukama wa Yosefu lwe yakomawo eka. N'amubuulira ebigambo bye bimu nti: “Omuweereza Omwebureeyi gwe watuleetera, yayingira gye ndi okunjooga. Naye bwe nakuba enduulu, n'andekera ekyambalo kye n'adduka n'afuluma ebweru.” Awo mukama wa Yosefu bwe yawulira ebigambo bya mukazi we nti: “Bw'atyo omusajja wo bwe yampisa,” n'asunguwala, n'akwata Yosefu, n'amuteeka mu kkomera abasibe ba kabaka mwe bakuumirwa, Yosefu n'abeera omwo mu kkomera. Naye Mukama n'aba awamu ne Yosefu, n'amukwatirwa ekisa, n'amuwa okusiimibwa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera. Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yosefu abasibe bonna mu kkomera okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera. Omukuumi w'ekkomera teyeeraliikiriranga kintu na kimu ekyakwasibwa Yosefu, kubanga Mukama yali wamu ne Yosefu, n'awa omukisa buli kimu kye yakola. Bwe waayitawo ekiseera ng'ebyo biwedde, omusenero wa kabaka w'e Misiri, n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe kabaka. Kabaka n'asunguwalira nnyo abakungu abo bombi: omukulu w'abasenero n'omukulu w'abafumbiro, n'abaggalira mu kkomera, mu nnyumba y'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri, mu kifo kye kimu Yosefu mwe yasibirwa. Omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri n'alonda Yosefu okubaweereza. Ne bamalayo ekiseera nga basibe. Mu kiro ekimu, eyo mu kkomera, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, buli omu n'aloota ekirooto, nga buli kirooto kya makulu maawufu. Yosefu bwe yagenda gye baali enkya ku makya, n'alaba nga beeraliikiridde. N'abuuza abakungu ba kabaka abo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, nti: “Kiki ekibeeraliikirizza bwe mutyo olwaleero?” Ne bamuddamu nti: “Buli omu ku ffe yaloose ekirooto, naye tewannabaawo ayinza kuvvuunula makulu ga birooto ebyo.” Yosefu n'agamba nti: “Katonda si ye asobozesa abantu okuvvuunula ebirooto? Kale mumbuulire ebirooto ebyo.” Awo omusenero omukulu n'abuulira Yosefu ekirooto kye, n'amugamba nti: “Mu kirooto kyange, waabaddewo omuzabbibu mu maaso gange, nga guliko amatabi asatu. Olwabadde okuleeta ebikoola, ne gumulisa ebimuli, ne gubala ebirimba by'emizabbibu emyengevu. Nabadde nkutte ekikopo kya kabaka mu ngalo zange, ne nzirira emizabbibu, ne ngikamulira mu kikopo kya kabaka, ne nkimukwasa mu ngalo ze.” Yosefu n'amugamba nti: “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku ssatu. Mu nnaku ssatu kabaka ajja kukuddiza obukulu bwo, akuzzeeyo mu bwami bwo olyoke omukwasenga ekikopo mu ngalo ze, nga bwe wakolanga edda, bwe wali omusenero we. Naye byonna bwe birikugendera obulungi onjijukiranga, nkwegayiridde. Nkwatirwa ekisa onjogereko eri kabaka, onzigye mu kkomera muno, kubanga ddala nanyagibwa mu nsi y'Abebureeyi, era ne kuno sikolanga kintu na kimu ekyandibanteesezza mu kkomera.” Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu g'ekirooto ekyo malungi, n'agamba Yosefu nti: “Nange naloose ekirooto. Nabadde neetisse ku mutwe gwange ebibbo bisatu ebirimu emigaati. Mu kibbo ekya waggulu mwabaddemu emigaati egya buli ngeri, nga gya kabaka. Ennyonyi ne zigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.” Yosefu n'addamu nti: “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku ssatu, kabaka ajja kukuggyako obukulu bwo, akusibemu omuguwa mu bulago, akuwanike ku muti, ofe, era ennyonyi zijja kulya omulambo gwo.” Ku lunaku olwokusatu, olwali olw'amazaalibwa ga kabaka, kabaka n'agabula abaweereza be bonna embaga. Omusenero omukulu n'omufumbiro omukulu n'abaddiza obukulu bwabwe mu maaso g'abaweereza be. N'akomyawo omusenero omukulu mu busenero bwe, omusenero oyo n'akwasa kabaka ekikopo mu ngalo ze. Naye kabaka n'awanika ku muti omufumbiro omukulu, nga Yosefu bwe yabavvuunulira ebirooto. Kyokka omusenero omukulu n'atalowooza ku Yosefu, n'amwerabirira ddala. Emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, kabaka n'aloota. Yaloota n'alaba ng'ayimiridde ku Mugga Kiyira. Ente musanvu ennungi era ennyirivu ne ziva mu mugga, ne zirya omuddo. N'ente endala musanvu embi era enkovvu, ne ziziddirira, nga nazo ziva mu mugga. Ne ziyimirira ku mabbali g'omugga, awali ente ziri endala. Ente embi era enkovvu ne zirya ente ziri ennungi era ennyirivu. Awo kabaka n'azuukuka. Era ne yeebaka n'aloota omulundi ogwokubiri. N'alaba ebirimba by'eŋŋaano musanvu ebigimu era ebirungi, ne bimera ku kikolo kimu. N'ebirimba by'eŋŋaano ebirala musanvu ne bibiddirira, ne bimera nga bitono era nga bibabuddwa empewo eziva mu ddungu. Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba biri ebigimu era ebinene. Kabaka n'azuukuka, era n'ategeera nti abadde aloota. Enkya mu makya ne yeeraliikirira, n'atumya abalaguzi bonna n'abagezigezi bonna ab'omu Misiri, n'ababuulira ebirooto bye, naye ne wataba n'omu ayinza kumuvvuunulira makulu gaabyo. Awo omusenero omukulu n'agamba kabaka nti: “Olwaleero nzijukidde nga nasobya. Ayi kabaka, bwe wasunguwalira abaweereza bo, nze n'omufumbiro omukulu, n'otusibira mu nnyumba y'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri, twaloota ebirooto mu kiro ekimu, ng'ekirooto kya buli omu kya makulu maawufu. Awamu naffe, waaliyo omulenzi Omwebureeyi, omuddu w'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri. Ne tumubuulira ebirooto byaffe, n'atuvvuunulira amakulu gaabyo, ng'ekirooto kya buli omu bwe kyali. Ne biba bwe bityo nga bwe yabituvvuunulira. Nze wanziza mu bwami bwange, naye omufumbiro omukulu wamusiba omuguwa mu bulago, n'omuwanika ku muti n'afa.” Kabaka n'atumya Yosefu, ne bamuggya mangu mu kkomera. Yosefu bwe yamala okwemwa, n'akyusa ebyambalo bye, n'ajja eri kabaka. Kabaka n'amugamba nti: “Naloose ekirooto, era tewannabaawo ayinza kuvvuunula makulu gaakyo. Mpulidde nga bakwogerako nti oyinza okuvvuunula ebirooto.” Yosefu n'addamu kabaka nti: “Si nze, naye Katonda ye anaakuwa, ayi Kabaka, okuvvuunula okulungi.” Awo kabaka n'agamba Yosefu nti: “Mu kirooto kyange, nabadde nnyimiridde ku mabbali g'omugga Kiyira. “Ente musanvu ennyirivu era ennungi ne ziva mu mugga, ne zirya omuddo. N'ente endala musanvu ennafu era embi ennyo ne ziziddirira. Nali sirabangako nte nkovvu ng'ezo, mu nsi yonna ey'e Misiri. Ente ezo enkovvu era embi, ne zirya ziri ennyirivu ezaasoose. Naye bwe zaamaze okuzirya, omuntu yabadde tayinza kumanya nti ziziridde, kubanga zaasigadde nkovvu nga bwe zaabadde mu kusooka. Awo ne nzuukuka. “Era mu kirooto kyange, ne ndaba ebirimba by'eŋŋaano musanvu ebinene era ebirungi, ne bimera ku kikolo kimu. Awo ebirimba musanvu ebiwotose, ebitono, era ebibabuliddwa empewo eziva mu ddungu, ne bibiddirira, nabyo ne bimera. Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba omusanvu ebirungi. Ebirooto nabibuulidde abalaguzi, naye ne wataba ayinza kubinnyinyonnyola.” Yosefu n'agamba kabaka nti: “Ebirooto byo, ayi kabaka, birina amakulu ge gamu. Katonda akutegeezezza by'agenda okukola. Ente omusanvu ennungi, gye myaka musanvu. N'ebirimba omusanvu ebirungi, era gye myaka musanvu. Ebirooto byombi birina amakulu ge gamu. N'ente omusanvu enkovvu era embi, ezaddirira ziri ezaasooka, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu mpeke, era ebibabuliddwa empewo eziva mu ddungu, egyo myaka musanvu egy'enjala. Ekyo kye nkugambye, ayi kabaka, nti Katonda akulaze by'agenda okukola. Walibeerawo emyaka musanvu egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri. Egyo nga giyiseewo, walibeerawo emyaka musanvu egy'enjala. N'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi y'e Misiri, era enjala erizikiriza ensi. Ekyengera kiryerabirirwa ddala mu nsi, olw'enjala erikiddirira, kubanga eriba nnyingi nnyo. Ekirooto okuba eky'emirundi ebiri, kitegeeza nti Katonda anywezezza ekigambo ekyo, era ajja kukituukiriza mangu. “Kale nno kaakano, ayi kabaka, wandironze omusajja omujagujagu era ow'amagezi, omuwe okufuga ensi ey'e Misiri. Era ayi kabaka, teekawo abakungu mu ggwanga, otereke ekitundu kimu ku bitundu bitaano eby'emmere yonna, eririmibwa mu nsi ey'e Misiri, mu myaka omusanvu egy'ekyengera. Era obalagire bakuŋŋaanye emmere mu myaka egyo emirungi egijja, batereke eŋŋaano mu bibuga, era bagikuume. Emmere eyo, ye eriba ey'okwekuumisa mu ggwanga, mu myaka omusanvu egy'enjala eribaawo mu nsi ey'e Misiri, edduukirire abantu, baleme okufa enjala.” Kabaka n'abaweereza be bonna, ne basiima entegeka eyo. Kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Tuyinza okuzuulayo omusajja ali ng'ono, omusajja ajjudde omwoyo gwa Katonda?” Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nga Katonda bw'akulaze ebyo byonna, tewali n'omu mujagujagu, era wa magezi nga ggwe. Ggwe onoofuganga ensi yange, era abantu bange bonna banaawuliranga by'olagira. Nze nzekka, nze nnaakusinganga okuba n'obuyinza.” Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Kaakano nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri.” Kabaka ne yeenaanula ku ngalo empeta ye eriko akabonero k'obwakabaka, n'aginaanika Yosefu ku ngalo, n'amwambaza ekyambalo eky'olugoye olulungi, era n'amwambaza mu bulago omukuufu ogwa zaabu. N'amuwa eggaali ye eyookubiri kw'aba atambulira, ne balangirira mu maaso ge nti: “Mufukamire.” Bw'atyo kabaka n'awa Yosefu okufuganga ensi yonna ey'e Misiri. Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nze kabaka era mu nsi ey'e Misiri tewali n'omu aligolola omukono gwe, wadde ekigere kye nga tokkirizza.” Kabaka n'atuuma Yosefu erinnya Zafenati Paneya, n'amuwa Asenati, muwala wa Potifera kabona ow'e Oni, okumuwasa. Yosefu n'atalaaga ensi ey'e Misiri yonna. Yosefu yali aweza emyaka amakumi asatu we yatandikira okuweereza kabaka w'e Misiri. N'ava mu lubiri lwa kabaka, n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri. Mu myaka omusanvu egy'ekyengera, ensi n'ebaza emmere nnyingi. Yosefu n'agikuŋŋaanyanga yonna, n'agiterekanga mu bibuga. N'aterekanga mu buli kibuga emmere ey'omu nnimiro ezikyetoolodde. Yosefu n'atereka eŋŋaano nnyingi nnyo ng'omusenyu ogw'ennyanja, era n'alekera awo okugipima, kubanga yali tekyapimika. Emyaka egy'enjala nga teginnatuuka, Yosefu n'afuna abaana babiri ab'obulenzi, Asenati muwala wa Potifera kabona w'e Oni be yamuzaalira. Yosefu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manasse, kubanga yagamba nti: “Katonda anneerabizza okubonaabona kwange kwonna n'amaka ga kitange gonna.” N'atuuma n'owookubiri erinnya Efurayimu, kubanga yagamba nti: “Katonda ampadde abaana mu nsi mwe mbonaabonedde.” Emyaka omusanvu egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako. Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitandika, nga Yosefu bwe yagamba. Enjala n'egwa mu nsi zonna. Naye mu nsi ey'e Misiri, mwo ng'emmere mweri. Abantu b'omu Misiri yonna bwe baalumwa enjala, ne bakaabirira kabaka olw'emmere. Bonna kabaka n'abagamba nti: “Mugende eri Yosefu, ky'anaabagamba kye muba mukola.” Enjala n'eba nnyingi, n'ebuna wonna mu nsi ey'e Misiri. Yosefu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri eŋŋaano. Abantu ne bavanga mu nsi zonna, ne bajja mu Misiri eri Yosefu okugula eŋŋaano, kubanga enjala yali nnyingi mu nsi zonna. Awo Yakobo bwe yamanya nga mu Misiri eriyo eŋŋaano, n'agamba batabani be nti: “Lwaki mudda awo okutunuuliganako? Mpulidde nga mu Misiri eriyo eŋŋaano. Muserengeteeyo, mutugulireyo ku ŋŋaano eneetubeesaawo, tuleme kufa njala.” Awo baganda ba Yosefu ekkumi, ne baserengeta e Misiri okugulayo eŋŋaano. Naye Benyamiini, muganda wa Yosefu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be, kubanga yatya nti sikulwa ng'akabi kamutuukako. Awo batabani ba Yisirayeli ne bajja wamu n'abantu abalala okugula eŋŋaano, kubanga waaliwo enjala mu nsi ya Kanaani. Yosefu ye yali omufuzi w'ensi ey'e Misiri, era ye yaguzanga abantu bonna abaavanga wonna mu nsi. Baganda be ne bajja, ne bavuunama mu maaso ge, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka. Yosefu bwe yalaba baganda be, n'abategeera, naye n'abayisa nga b'atamanyi, n'ayogera nabo n'ebboggo, n'abagamba nti: “Muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva mu nsi ya Kanaani, tuzze kugula mmere.” Yosefu yategeera baganda be, naye bo tebaamutegeera. Yosefu n'ajjukira ebirooto, bye yaloota ku bo, n'abagamba nti: “Muli bakessi. Muzze okulaba ebitundu mwe tuteenywezezza mu nsi yaffe.” Ne bamuddamu nti: “Nedda, mukama waffe. Naye ffe abaweereza bo, tuzze kugula mmere. Ffenna tuli baana ba kitaffe omu. Ffe abaweereza bo, tuli bantu ba mazima, tetuli bakessi.” Yosefu n'abagamba nti: “Nedda, ebitundu mwe tuteenywezezza mu nsi yaffe bye muzze okulaba.” Ne bagamba nti: “Ffe abaweereza bo, tuli abooluganda kkumi na babiri, nga tuli baana ba kitaffe omu, mu nsi ya Kanaani. Muganda waffe omu takyaliwo, ate oyo asembayo obuto, ali wamu ne kitaffe kaakano.” Yosefu n'abagamba nti: “Kye kiikyo kye mbagambye nti muli bakessi. Mujja kugezebwa bwe muti: nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti temujja kuva wano, wabula nga muganda wammwe asembayo obuto azze wano. Mutume omu ku mmwe akime muganda wammwe. Mmwe abalala mujja kusibibwa mu kkomera, okutuusa lwe tunaakakasa nti bye mugamba bya mazima. Bwe kitaabe bwe kityo, nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti ddala muli bakessi.” N'abateeka bonna wamu mu kkomera, okumala ennaku ssatu. Ku lunaku olwokusatu, Yosefu n'agamba nti: “Ndi muntu assaamu Katonda ekitiibwa. Kale mukole kye ŋŋamba, mulyoke muwonye obulamu bwammwe. Oba nga muli bantu ba mazima, omu ku baganda bammwe asigale wano mu kkomera mwe mubadde musibiddwa, naye mwe abalala mugende, ab'omu maka gammwe abafa enjala mubatwalire eŋŋaano. Era mundeetere muganda wammwe asembayo obuto. Ekyo kirikakasa nti bye mwogedde bya mazima, era siribatta.” Ne bakkiriza okukola bwe batyo. Ne bagambagana nti: “Mazima omusango gwatusinga olwa muganda waffe, kubanga twalaba bw'abonaabona bwe yatwegayirira, naye ffe ne tugaana okuwulira, kye tuvudde tubonaabona bwe tuti!” Rewubeeni n'abaddamu nti: “Ssaabagamba nti omwana temumukolako kabi, naye mmwe ne mugaana okuwulira? Kaakano kyetuva tubonerezebwa olw'okufa kwe.” Ne batamanya nga Yosefu ategedde bye boogera, kubanga baayogeranga naye nga waliwo abavvuunulira. Yosefu n'ava we bali, n'akaaba amaziga. N'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusiba nga balaba. Yosefu n'alagira okujjuza ensawo za baganda be eŋŋaano, n'okuddiza buli omu ensimbi ze mu nsawo ye, era n'okubawa entanda. Ne babakolera bwe batyo. Ne batikka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda. Omu ku bo bwe yasumulula ensawo ye okuwa endogoyi ye ebyokulya mu kifo we baasula, n'alaba ensimbi ze ku mumwa gw'ensawo ye. N'agamba baganda be nti: “Ensimbi zange bazinzirizza, ziizino mu nsawo yange.” Emitima ne gibatyemuka, ne bakankana, ne bagambagana nti: “Kiki kino Katonda ky'atukoze?” Bwe baatuuka eri Yakobo kitaabwe, mu nsi ya Kanaani, ne bamubuulira byonna ebyabatuukako. Ne bagamba nti: “Omusajja omufuzi wa Misiri yayogera naffe n'ebboggo, n'atulumiriza nti tuketta ensi ye. Ne tumugamba nti: ‘Tuli bantu ba mazima, tetuli bakessi. Tuli abooluganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe omu. Muganda waffe omu takyaliwo. Ate oyo asembayo obuto, ali wamu ne kitaffe kaakano mu nsi ya Kanaani.’ Omusajja oyo omufuzi wa Misiri, n'atugamba nti: ‘Ku kino kwe nnaategeerera nga muli bantu ba mazima: omu ku mmwe mumuleke wamu nange, abalala mugende mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano, abafa enjala. Mundeetere muganda wammwe asembayo obuto, olwo nditegeera nga temuli bakessi, naye nga muli bantu ba mazima. Ndibaddiza muganda wammwe, era munaasuubulanga mu nsi eno!’ ” Awo bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, buli omu n'asanga mu nsawo ye ensimbi ze, ze yasiba. Bwe baalaba ensimbi zaabwe ze baasiba, bo ne kitaabwe ne batya. Yakobo kitaabwe n'agamba nti: “Mummazeeko abaana bange: Yosefu takyaliwo, ne Simyoni takyaliwo. Era kaakano mwagala okunzigyako ne Benyamiini. Ebyo byonna bibonyaabonya nze!” Rewubeeni n'agamba kitaawe nti: “Bwe sirikomyawo Benyamiini gy'oli, ottanga batabani bange bombi. Munkwase, ndimukomyawo gy'oli.” Naye Yakobo n'agamba nti: “Omwana wange tajja kugenda nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye, ye asigaddewo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu kkubo lye muliyitamu, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde.” Enjala n'eba nnyingi mu nsi. Awo bwe baamala okulya eŋŋaano yonna, gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'agamba nti: “Muddeeyo mutugulire ku kamere.” Yuda n'amugamba nti: “Omusajja yatulabulira ddala nti: ‘Temujjanga mu maaso gange, wabula nga muganda wammwe ali awamu nammwe.’ Bw'onokkiriza muganda waffe okugenda awamu naffe, tunaagenda ne tukugulira emmere. Naye bw'otoomukkirize, tetujja kugenda kubanga omusajja yatugamba nti: ‘Temujjanga mu maaso gange, wabula nga muganda wammwe ali awamu nammwe.’ ” Yisirayeli n'agamba nti: “Lwaki mwandeetera omutawaana ogwenkanidde awo, okubuulira omusajja nti mulinayo muganda wammwe omulala?” Ne baddamu nti: “Omusajja yatubuuza nnyo ku bitufaako, ne ku baganda baffe, ng'agamba nti: ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Twamuddamu ebyo bye yatubuuza. Twanditegedde tutya nti anaatugamba nti: ‘Muleete muganda wammwe?’ ” Yuda n'agamba Yisirayeli nti: “Omulenzi mukwase nze, tusituke tugende, tulyoke tube balamu; ffe naawe, n'abaana baffe abato, enjala ereme kututta. Nze nneeyamye okumukuuma. Olimubuuza nze. Bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna. Singa tetuludde, kaakano twandibadde twagenda dda era nga tukomyewo n'omulundi ogwokubiri.” Awo Yisirayeli kitaawe n'abagamba nti: “Oba nga bwe kiri bwe kityo, mukole bwe muti: mutwale mu nsawo zammwe ebirabo bye munaawa omusajja. Mumutwalire ku bintu eby'omu nsi eno ebisinga obulungi, ku nvumbo, ku mubisi gw'enjuki, ku by'akawoowo ebiyitibwa baamu ne mirra, ne ku binyeebwa eby'omu ttaka n'eby'oku miti. “Era mutwale ensimbi za mirundi ebiri, muzzeeyo n'ezo ezazzibwa ku mimwa gy'ensawo zammwe. Oboolyawo nga baazizza mu butanwa. Mutwale ne muganda wammwe, musituke muddeyo eri omusajja. Katonda Omuyinzawaabyonna abakwatirwe ekisa nga muli mu maaso g'omusajja, omusajja alyoke abaddize muganda wammwe omulala, ne Benyamiini. Nze oba ndi wa kufiirwa baana bange, ndibafiirwa.” Awo abooluganda ne batwala ebirabo n'ensimbi za mirundi ebiri, ne basitula, ne baserengeta e Misiri, nga bali wamu ne Benyamiini. Ne beeyanjula mu maaso ga Yosefu. Yosefu bwe yalaba Benyamiini nga ali wamu nabo, n'agamba omuwanika we nti: “Twala abasajja bano mu nnyumba yange, otte ensolo, kubanga bajja kuliira wamu nange ekyemisana.” Omusajja n'akola nga Yosefu bwe yamulagira, n'atwala abooluganda mu nnyumba ya Yosefu. Abooluganda ne batya olw'okuleetebwa mu nnyumba ya Yosefu. Ne bagamba nti: “Batuleese muno, olw'ensimbi ezazzibwa mu nsawo zaffe ku mulundi ogwasooka, alyoke atuvunaane, atufubutukire, atunyageko endogoyi zaffe, era atufuule abaddu be.” Awo ne basemberera omuwanika wa Yosefu, ne boogera naye, nga bali ku mulyango gw'ennyumba. Ne bagamba nti: “Ssebo, twajjako wano okugula emmere omulundi ogwasooka. Bwe twatuuka mu kifo we twasula nga tuddayo eka, ne tusumulula ensawo zaffe, ne tusanga ensimbi za buli omu nga ziri ku mumwa gw'ensawo ye, era tuzikomezzaawo. Tuleese n'ensimbi endala okugula emmere. Tetumanyi yateeka nsimbi mu nsawo zaffe.” Omuwanika n'agamba nti: “Temweraliikirira, temutya. Katonda wa kitammwe ye yabateeramu ensimbi ezo mu nsawo zammwe. Nafuna ensimbi zammwe ze mwasasula.” N'abaggyirayo Simyoni. Omuwanika n'atwala abooluganda abo mu nnyumba ya Yosefu, n'abawa amazzi ne banaaba ebigere, era n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya. Ne bateekateeka ebirabo eby'okuwa Yosefu ng'azze gye bali mu ttuntu, kubanga baali babagambye nti banaaliira eyo awamu naye ekyemisana. Yosefu bwe yajja, baganda be ne bamuleetera mu nnyumba ebirabo bye baali nabyo, ne bamuvuunamira. N'ababuuza nti: “Muli mutya?” Era n'agamba nti: “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako akyali mulamu? Ali bulungi?” Ne baddamu nti: “Omuweereza wo kitaffe akyali mulamu, era ali bulungi.” Ne bamuvuunamira, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka. Awo Yosefu n'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamiini muganda we, omwana wa nnyina, n'agamba nti: “Oyo ye muganda wammwe asembayo obuto gwe mwambuulirako?” N'agamba Benyamiini nti: “Katonda akukwatirwe ekisa, mwana wange!” Yosefu n'avaawo mangu, kubanga emmeeme yamutenguka olwa muganda we. N'anoonya w'anaakaabira amaziga. N'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo. Bwe yamala okunaaba mu maaso, n'afuluma, ne yeefuga, n'agamba nti: “Musoosootole emmere.” Yosefu ne bamusoosootolera yekka, ne baganda be ne babasoosootolera bokka, n'Abamisiri abaalya ku kijjulo ekyo nabo ne babasoosootolera bokka, kubanga Abamisiri tebaliira wamu na Beebureeyi. Ekyo kya muzizo mu Bamisiri. Abooluganda ne batuuzibwa nga batunuulidde Yosefu, nga bwe baddiŋŋanako mu kuzaalibwa, okuva ku asinga obukulu, okutuuka ku asembayo obuto. Ne batunulaganako, ne beewuunya. Yosefu n'ababegera ku mmere eyali mu maaso ge. Ekitole kya Benyamiini ne kisinga obunene emirundi etaano ku buli kimu ku by'abalala bonna. Ne banywa, ne basanyukira wamu ne Yosefu. Awo Yosefu n'alagira omuwanika we nti: “Teeka mu nsawo z'abasajja emmere yonna gye bayinza okwetikka, era teeka ensimbi za buli omu ku mumwa gw'ensawo ye. Teeka n'ekikopo kyange, ekya ffeeza, ku mumwa gw'ensawo ey'oyo asinga obuto, era oteekemu n'ensimbi ze z'aguzizza eŋŋaano.” Omuwanika n'akola nga Yosefu bw'amugambye. Bwe bwakya enkya, abooluganda ne basiibulwa nga bali n'endogoyi zaabwe. Bwe baali baakatambulako katono okuva mu kibuga, Yosefu n'agamba omuwanika we nti: “Situka ogoberere abasajja abo. Bw'onoobatuukako, ogambe nti: ‘Lwaki ebirungi mubisasuddemu ebibi? Lwaki mubbye ekikopo kya mukama wange ekya ffeeza? Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anyweramu era ky'akozesa ng'alagula? Kye mukoze kibi nnyo!’ ” Omuwanika bwe yabatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo. Ne baddamu nti: “Ssebo, kiki ekikwogeza ebigambo ebiri ng'ebyo? Ffe abaweereza bo, tetuyinza kukola kintu ekiri ng'ekyo. Olaba ensimbi ze twasanga ku mimwa gy'ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanaani, kale twandibbye tutya ffeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo? Ssebo, buli yenna ku ffe abaweereza bo, anaasangibwa nga ye ali nakyo, anattibwa, era naffe abasigaddewo tunaaba baddu bo.” N'agamba nti: “Kale kibe nga bwe mugambye. Wabula oyo anaasangibwa nakyo, ye anaaba omuddu wange. Mwe abalala temuubeeko musango.” Awo ne batikkula mangu ensawo zaabwe, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye. Omuwanika wa Yosefu n'ayaza, ng'asookera ku asinga obukulu, n'amalira ku asinga obuto. Ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamiini. Abooluganda ne balyoka bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, buli omu n'atikka ebintu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga. Yuda ne baganda be bwe baatuuka mu nnyumba ya Yosefu, ne basanga ng'akyaliyo, ne bavuunama mu maaso ge. Yosefu n'abagamba nti: “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali mu kifo ng'ekyange, ddala ayinza okulagula?” Yuda n'agamba nti: “Tunaakugamba ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tunaawoza tutya? Katonda azudde omusango gwaffe. Tuutuno. Kaakano tuli baddu bo, mukama wange, ffe era n'oyo asangiddwa n'ekikopo.” Yosefu n'agamba nti: “Nedda, siyinza kukola bwe ntyo. Oyo yekka asangiddwa n'ekikopo, ye anaaba omuddu wange. Naye mmwe abalala mwambuke muddeyo mirembe eri kitammwe.” Awo Yuda n'ajja awali Yosefu, n'agamba nti: “Mukama wange, nkwegayiridde, nzikiriza, nze omuddu wo, njogereko naawe. Tonsunguwalira, kubanga oli nga kabaka yennyini. Mukama wange, watubuuza ffe abaddu bo nti: ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’ Ffe ne tukuddamu nti: ‘Tulina kitaffe mukadde, ne muganda waffe omuto, eyazaalibwa nga kitaffe akaddiye. Muganda w'omwana oyo yafa, era ye, ye yekka asigaddewo ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala nnyo.’ Ggwe n'olyoka otugamba ffe abaddu bo nti: ‘Mumundeetere mmulabeko.’ Ne tukugamba, mukama wange, nti: ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga singa amuvaako, kitaawe ajja kufa.’ N'otugamba ffe abaddu bo nti: ‘Muganda wammwe asinga obuto bw'atalijja wamu nammwe, temulikkirizibwa mu maaso gange nate.’ “Bwe twaddayo eri kitange omuweereza wo, ne tumutegeeza bye wayogera. Kitaffe n'agamba nti: ‘Muddeeyo, mutugulire akamere.’ Ffe ne tugamba nti: ‘Tetuyinza kugenda, kubanga tetujja kukkirizibwa mu maaso ga musajja oli, okuggyako nga muganda waffe asinga obuto ali wamu naffe. Muganda waffe asinga obuto bw'anaagenda awamu naffe, olwo lwe tunaagenda.’ Kitaffe omuweereza wo n'atugamba nti: ‘Mumanyi nga mukazi wange Raakeeli yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri. Omu yanvaako, ne ŋŋamba nti ddala yataagulwataagulwa ensolo enkambwe! Era siddangayo kumulabako kasookedde anvaako. Bwe munanzigyako n'ono, akabi ne kamutuukako, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde!’ “Kale kaakano bwe ndiddayo eri kitange omuweereza wo, ng'omulenzi tali wamu nange, obulamu bwa kitaffe nga bwe buli awamu n'obw'omulenzi, olulituuka, kitaffe n'alaba ng'omulenzi tali wamu naffe, talirema kufa. Olwo ffe abaddu bo, okunakuwala kwe tulireetera kitaffe omuweereza wo omukadde, kulimutta. Nze omuddu wo, nze neeyama eri kitange, okukuuma omulenzi nga ŋŋamba nti: ‘Bwe sirimukomyawo gy'oli, nze ndiba n'omusango gy'oli ennaku zonna ez'obulamu bwange.’ Kale nno, mukama wange, nkwegayiridde, nzikiriza nze nsigale wano okuba omuddu wo, mu kifo ky'omulenzi, ye omulenzi addeyo wamu ne baganda be, kubanga ndituuka ntya eri kitange, ng'omulenzi tali wamu nange? Siyinza kugumira kulaba kabi kalituuka ku kitange.” Yosefu n'alemwa okwefugira mu maaso g'abaweereza be, n'alagira bonna bafulume bave w'ali. Ne watasigalawo n'omu nga Yosefu yeeyoleka eri baganda be. N'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka, Abamisiri n'ab'omu lubiri lwa kabaka, ne bawulira. Yosefu n'agamba baganda be nti: “Nze Yosefu. Kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batya nnyo, okulaba nga bayimiridde mu maaso ge, ne batasobola kumuddamu. Yosefu n'agamba baganda be nti: “Musembere we ndi, mbeegayiridde!” N'agamba nti: “Nze Yosefu muganda wammwe, gwe mwatunda mu Misiri. Era kaakano temunakuwala, wadde okwesunguwalira olw'okuntunda muno, kubanga Katonda ye yansindika okubakulemberamu mmwe, okuwonya obulamu bw'abantu. Enjala yaakamala mu nsi emyaka ebiri, ng'ate wakyasigadde emyaka emirala etaano, gye batagenda kulimiramu, wadde okukunguliramu. Katonda yansindika okubakulemberamu mmwe, mulyoke mukuumibwe nga muli balamu ku nsi, n'okubawonya mmwe, ne bazzukulu bammwe mu ngeri eyeewuunyisa. Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda. Era yanfuula nga kitaawe wa kabaka w'ensi eno, alabirira ebibye byonna, era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri. “Mwanguwe, muddeeyo eri kitange, mumugambe nti omwana wo Yosefu agamba bw'ati nti: ‘Katonda yanfuula omufuzi wa Misiri yonna. Jjangu gye ndi awatali kulwa. Onoobeeranga mu nsi y'e Goseni, obeerenga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, ne bazzukulu bo, n'endiga zo n'embuzi zo, ne byonna by'olina. Nnaakulabiriranga ng'oli eyo, ggwe n'ab'omu maka go, ne byonna by'olina, oleme kwavuwala, kubanga wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano egy'enjala.’ Kaakano mmwe mwennyini mulaba, era ne muganda wange Benyamiini alaba, nga nze Yosefu yennyini ayogera nammwe. Mubuulire kitange ekitiibwa kyange kyonna kye nnina mu Misiri, era mumutegeeze ne byonna bye mulabye. Mwanguwe muleete kitange wano.” Awo Yosefu n'agwa muganda we Benyamiini mu kifuba, era n'akaaba amaziga. Benyamiini naye n'akaaba amaziga ng'amuwambaatidde. Yosefu n'anywegera baganda be bonna, nga bw'akaaba amaziga. Ebyo bwe byaggwa, baganda be ne banyumya naye. Ebigambo bwe byatuuka mu lubiri lwa kabaka nti baganda ba Yosefu bazze, kabaka n'abakungu be ne basanyuka nnyo. Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Gamba baganda bo nti: ‘Mutikke ebintu ku nsolo zammwe, muddeyo mu nsi ya Kanaani, muggyeyo kitammwe n'ab'omu maka gammwe, mujje gye ndi. Ndibawa ettaka erisinga obugimu mu Misiri, era munaalyanga ku birungi eby'omu nsi eno.’ Era balagire nti: ‘Mukole bwe muti: nga muva mu nsi ey'e Misiri, mugende n'amagaali kwe mulireetera abaana bammwe abato ne bakazi bammwe, mujje ne kitammwe. Era temweraliikirira kulekayo bintu byammwe, kubanga ebisinga obulungi mu nsi ey'e Misiri yonna, biriba byammwe.’” Batabani ba Yisirayeli ne bakola bwe batyo. Yosefu n'abawa amagaali nga kabaka bwe yalagira. N'abawa n'entanda ey'okuliira mu kkubo. Buli omu ku bonna, n'amuwa engoye ez'okukyusizaamu, naye Benyamiini n'amuwa ebintu bya ffeeza ebikumi bisatu, n'engoye ez'okukyusizaamu za mirundi etaano. N'aweereza kitaawe endogoyi kkumi, ezeetisse ebintu ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi ezetisse eŋŋaano, emigaati, n'ebyokulya ebirala, kitaawe by'aliriira mu kkubo. N'asiibula baganda be, n'agamba nti: “Mwekuume, muleme okuyombera mu kkubo!” Ne bava mu Misiri, ne bajja eri Yakobo kitaabwe, mu nsi ya Kanaani. Ne bamubuulira nti: “Yosefu akyali mulamu, era ye afuga ensi yonna ey'e Misiri.” Yakobo n'awuniikirira, n'atabakkiriza. Naye bwe baamunyumiza ebyo byonna Yosefu bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yosefu ge yaweereza okumutwaliramu, n'addamu amaanyi. Yisirayeli n'agamba nti: “Kimala, omwana wange akyali mulamu. Nja kugenda mmulabeko nga sinnafa.” Awo Yisirayeli n'atwala byonna bye yalina, n'agenda e Beruseba, n'awaayo ekitambiro eri Katonda wa kitaawe Yisaaka. Katonda n'ayogera ne Yisirayeli, ng'amulabikidde ekiro, n'amuyita nti: “Yakobo, Yakobo!” Ye n'addamu nti: “Nzuuno!” Katonda n'agamba nti: “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo. Totya kuserengeta mu Misiri, kubanga bazzukulu bo ndibafuulira eyo eggwanga eddene. Nja kuserengeta wamu naawe mu Misiri, era ndikomyawo bazzukulu bo mu nsi eno. Era bw'olifa, Yosefu aliba waali, era alikuziika.” Yakobo n'asitula n'ava mu Beruseba, batabani be ne bamuteeka ye n'abaana baabwe ne bakazi baabwe, mu magaali, kabaka w'e Misiri ge yaweereza okumutwaliramu. Ne batwala ensolo zaabwe, n'ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanaani, ne bagenda mu Misiri. Yakobo n'agenda wamu n'ezadde lye lyonna, batabani be, ne bazzukulu be ab'obulenzi n'ab'obuwala. Gano ge mannya g'Abayisirayeli abaagenda mu Misiri, Yakobo ne batabani be: Rewubeeni, omwana omubereberye owa Yakobo; ne batabani ba Rewubeeni: Hanoki ne Pallu, ne Hezirooni, ne Karumi; Simyoni ne batabani be: Yemweli ne Yamini, ne Okaadi, Yakini, ne Zohari, ne Sawuuli omwana w'omukazi Omukanaani; Leevi ne batabani be: Gerusooni ne Kohati, ne Merari; Yuda ne batabani be: Eri ne Onani, ne Seera ne Pereezi ne Zeera. Naye Eri ne Onani bafiira mu nsi ya Kanaani. Batabani ba Pereezi baali Hezurooni ne Hamuli. Yissakaari ne batabani be: Toola ne Puva, ne Yobu, ne Zimurooni. Zebbulooni ne batabani be: Seredi ne Eloni, ne Yaleeli. Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Paddanaraamu. Waaliwo ne muwala we Dina. Ezzadde lyonna erya Yakobo eryasibuka mu Leeya, baali abantu amakumi asatu mu basatu. Gaadi ne batabani be: Zifiyooni ne Haggi, ne Suni ne Ezubooni, ne Eri ne Aroodi, ne Areli; Aseri ne batabani be: Yimuna ne Yisuwa ne Yisuyi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe; batabani ba Beriya: Heberi ne Malukiyeeli. Abo ekkumi n'omukaaga, lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Zilupa, omuzaana Labani gwe yawa Leeya muwala we. Raakeeli muka Yakobo, yamuzaalira abaana ab'obulenzi babiri: Yosefu ne Benyamiini. Mu Misiri, Asenati, muwala wa Potifera kabona w'e Oni, yazaalira Yosefu abaana ab'obulenzi babiri: Manasse ne Efurayimu. Batabani ba Benyamiini baali: Bela ne Bekeri, ne Asubeeli ne Gera, ne Naamani ne Eki, ne Roosi, ne Muppimu, ne Huppimu, ne Aruudi. Abo ekkumi n'abana lye zadde lya Yakobo eryasibuka mu Raakeeli. Daani yalina mutabani we Husimu. Batabani ba Nafutaali baali Yazeeli, ne Guni, ne Yezeri, ne Sillemu. Abo omusanvu lye zadde lya Yakobo eryasibuka mu Biliha, omuzaana Labani gwe yawa Raakeeli muwala we. Ezzadde lya Yakobo lyonna eryagenda mu Misiri, lyali abantu nkaaga mu mukaaga, nga tobaliddeemu baka batabani be. Batabani ba Yosefu abaamuzaalirwa mu Misiri, baali babiri. Abantu bonna ab'omu nnyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri, baali nsanvu. Yakobo n'atuma Yuda okumukulemberamu, agende eri Yosefu amusabe abasisinkane e Goseni. Ne batuuka mu kitundu ky'e Goseni. Yosefu n'ateekateeka eggaali ye, n'agenda e Goseni okusisinkana Yisirayeli kitaawe. Bwe baasisinkana, Yosefu n'agwa kitaawe mu kifuba, n'akaaba amaziga okumala ekiseera kiwanvu. Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Ne bwe nfa kaakano, kasita nkulabyeko ne mmanya ng'okyali mulamu.” Yosefu n'agamba baganda be n'ab'omu nnyumba ya kitaawe nti: “Ka ŋŋende ntegeeze kabaka nti baganda bange n'ab'omu nnyumba ya kitange, abaali mu nsi ya Kanaani, bazze gye ndi. Nja kumutegeeza nti muli basumba, era abalunzi b'ebisolo, era nti muleese endiga zammwe n'embuzi n'ente zammwe, n'ebyammwe byonna bye mulina. Kabaka bw'anaabayita n'ababuuza nti: ‘Mukola mulimu ki?’ Munaamuddamu nti: ‘Ffe abaweereza bo, tubadde basumba okuva mu buto bwaffe n'okutuusa kati, nga ne bajjajjaffe bwe baali,’ mulyoke mubeere mu kitundu ky'e Goseni, kubanga Abamisiri baziza okubeera n'abasumba.” Awo Yosefu n'alonda bataano ku baganda be, n'agenda nabo eri kabaka, n'amugamba nti: “Kitange ne baganda bange batuuse, nga bavudde mu nsi ya Kanaani. Bazze n'endiga zaabwe n'ente zaabwe, ne byonna bye balina, era kaakano bali mu kitundu ky'e Goseni.” N'ayanjula baganda be eri kabaka. Kabaka n'ababuuza nti: “Mukola mulimu ki?” Ne bamuddamu nti: “Ffe abaweereza bo, tuli basumba, nga ne bajjajja baffe bwe baali. Tuzze okubeera mu nsi eno, kubanga mu nsi ya Kanaani enjala nnyingi, tewali muddo gwa kuliisa magana gaffe. Kale nno kaakano, tukwegayiridde, tukkirize tubeere mu kitundu ky'e Goseni.” Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Kaakano kitaawo ne baganda bo nga bwe bazze gy'oli, ensi y'e Misiri eri awo. Bateeke awasinga obulungi, babeere mu kitundu eky'e Goseni. Era oba nga omanyi mu bo abasobola, bawe okulabirira amagana gange.” Awo Yosefu n'aleeta Yakobo kitaawe, n'amwanjula eri kabaka. Yakobo n'asabira kabaka omukisa. Kabaka n'abuuza Yakobo nti: “Olina emyaka emeka egy'obukulu?” Yakobo n'addamu nti: “Emyaka gye nnaakamala ku nsi, giri kikumi mu asatu. Emyaka egyo gibadde mizibu era mitono, tegyenkanye myaka gya bajjajjange emingi gye baamala ku nsi.” Yakobo era n'asabira kabaka omukisa, n'avaayo. Awo Yosefu n'asenza kitaawe ne baganda be, n'abawa ettaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu kitundu ky'e Rameseesi, nga kabaka bwe yalagira. Yosefu n'afuniranga kitaawe ne baganda be, n'amaka ga kitaawe gonna, emmere ng'alabira ku bungi bwabwe. Ne wataba mmere mu nsi yonna, kubanga enjala yali nnyingi nnyo, abantu b'omu Misiri n'ab'omu Kanaani ne bakenena olw'enjala. Yosefu n'akuŋŋaanya ensimbi zonna, ezaali mu nsi y'e Misiri, ne mu nsi ya Kanaani, ng'aguza abantu eŋŋaano, Yosefu n'azireeta mu ggwanika lya kabaka. Ensimbi zonna bwe zaggwaayo mu nsi y'e Misiri, ne mu nsi ya Kanaani, Abamisiri bonna ne bajja eri Yosefu, ne bagamba nti: “Tuwe emmere. Totuleka kufa ng'olaba. Ensimbi zituweddeko.” Yosefu n'agamba nti: “Muleete ensolo zammwe, mbaweemu emmere, oba ng'ensimbi zibaweddeko.” Ne baleetera Yosefu ensolo zaabwe, Yosefu n'abawa emmere, nga bo bawaayo ensolo zaabwe zonna. Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja gy'ali mu mwaka ogwaddirira, ne bamugamba nti: “Tetujja kukukisa, ssebo: ensimbi zaffe zonna zaatuggwaako, n'amagana g'ensolo zaffe twagakuwa dda. Tetukyalina kirala kya kukuwa, ssebo, okuggyako okukwewa ffe ffennyini n'ebibanja byaffe. Totuleka kufa, n'ensi yaffe okuzikirira ng'olaba. Tugule, ffe n'ebibanja byaffe, otuweemu emmere. Tunaabanga baddu ba kabaka, era n'ebibanja byaffe binaabanga bibye. Tuwe eŋŋaano ey'okulya n'ey'okusiga, tuleme kufa, era tulime, ensi yaffe ereme okuzika.” Awo Yosefu n'agulira kabaka ensi yonna ey'e Misiri. Buli Mumisiri n'atunda ekibanja kye, kubanga enjala yabayitirirako obungi. Ettaka lyonna ne liba lya kabaka. Yosefu abantu n'abafuula baddu okuva ku nsalo ya Misiri emu, okutuuka ku ndala. Ettaka lya bakabona lyokka ly'ataagula, kubanga bakabona baalina omugabo ogwabwe, kabaka gwe yabawanga ogwabayimirizangawo, kyebaava batatunda ttaka lyabwe. Yosefu n'agamba abantu nti: “Ngulidde kabaka ettaka lyammwe, nammwe ne mbaguliramu. Kale ensigo ziizo, ze munaasiga mu nnimiro zammwe. Mu makungula, munaawanga kabaka ekitundu kimu ekyokutaano. Ebitundu ebina ebisigaddewo, bye binaabanga ebyammwe eby'okusiga n'okulya, mmwe awamu n'ab'omu maka gammwe.” Ne bagamba nti: “Otuwonyezza okufa! Era ssebo, bw'osiima, tunaaba baddu ba kabaka.” Awo Yosefu n'ateeka etteeka mu Misiri erikyaliwo ne leero, abantu okuwanga kabaka ekitundu ekimu ekyokutaano. Ettaka lya bakabona lyokka lye litaafuuka lya kabaka. Abayisirayeli ne babeera mu nsi y'e Misiri, mu kitundu eky'e Goseni, ne bagaggawalira omwo, ne bazaala abaana, ne beeyongera nnyo obungi. Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu mu nsi y'e Misiri, bw'atyo n'aweza emyaka kikumi mu ana mu musanvu. Yisirayeli bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayita omwana we Yosefu, n'amugamba nti: “Kkiriza, nkwegayiridde, oteeke ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange, weeyame nti tolinziika mu Misiri. Naye njagala nziikibwe awali bajjajjange, onzigye mu Misiri, onziike mu kifo mwe baaziikibwa.” Yosefu n'addamu nti: “Ndikola nga bw'osabye.” Yakobo n'agamba nti: “Ndayirira.” Yosefu n'amulayirira. Yisirayeli ne yeebaliza ku kitanda kye. Ebyo bwe byaggwa, ne babuulira Yosefu nti: “Kitaawo mulwadde.” Yosefu n'agenda wamu ne batabani be bombi Manasse ne Efurayimu, okulaba Yakobo. Ne bategeeza Yakobo nti: “Omwana wo Yosefu azze okukulaba.” Yakobo ne yeekakaba, n'atuula ku kitanda. N'agamba Yosefu nti: “Katonda Omuyinzawaabyonna yandabikira e Luuzi mu nsi ya Kanaani, n'ampa omukisa, n'aŋŋamba nti: ‘Ndikuwa abaana bangi, bazzukulu bo ne mbafuula amawanga mangi. Era ndiwa bazzukulu bo ensi eno, ebe yaabwe emirembe gyonna.’ Kaakano batabani bo bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri, nga sinnajja gy'oli mu Misiri, bange. Efurayimu ne Manasse banaabanga batabani bange nga Rewubeeni ne Simyoni bwe bali. Abaana b'olizaala ne badda ku bano, be baliba ababo, era obusika balibufunira ku baganda baabwe abo. Kino nkikoze olwa nnyoko Raakeeli. Bwe nali nga nva mu Paddani, yanfaako mu nnaku ey'ekitalo, mu nsi ya Kanaani, mu kkubo, nga wakyasigaddeyo ebbanga okutuuka mu Efuraati, ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda mu Efuraati, ye Betilehemu.” Yisirayeli bwe yalaba batabani ba Yosefu, n'abuuza nti: “Bano be baani?” Yosefu n'addamu kitaawe nti: “Be baana bange, Katonda be yampeera wano.” Yisirayeli n'agamba nti: “Baleete we ndi, mbasabire omukisa.” Amaaso ga Yisirayeli gaali gazibye olw'obukadde, nga takyalaba bulungi. Yosefu n'abamusembereza. N'abawambaatira, n'abanywegera. Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Nali sirowooza nga ndiddayo okukulabako. Naye kaakano Katonda anzikirizza okulaba ne ku baana bo!” Yosefu n'abaggya mu maviivi ga Yisirayeli, era n'avuunama ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka. Yosefu n'abakwata bombi, Efurayimu mu mukono gwe ogwa ddyo, ku ludda olwa Yisirayeli olwa kkono, ne Manasse mu mukono gwe ogwa kkono, ku ludda lwa Yisirayeli olwa ddyo, n'abasembeza awali kitaawe. Naye Yisirayeli n'agolola emikono gye, n'agigombeza: ogwa ddyo n'agussa ku mutwe gwa Efurayimu asinga obuto, ogwa kkono n'agussa ku Manasse asinga obukulu. N'asabira Yosefu omukisa, n'agamba nti: “Katonda, jjajjange Aburahamu ne kitange Yisaaka gwe baaweerezanga, Katonda eyandabiriranga okuva mu buto bwange okutuusa kaakano, awe abaana bano omukisa. Malayika eyannunula mu buli kabi konna, abawe omukisa. Erinnya lyange n'erya jjajjange Aburahamu, n'erya kitange Yisaaka, gatuumibwenga mu bo. Bazaale abaana bangi, bafune abazzukulu bangi nnyo ku nsi.” Yosefu bwe yalaba nga kitaawe, atadde omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efurayimu, n'atasanyuka. N'akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efurayimu, okugussa ku mutwe gwa Manasse. Yosefu n'agamba kitaawe nti: “Ekyo si kituufu taata, kubanga ono ye mukulu. Teeka omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe.” Kyokka kitaawe n'agaana. N'agamba nti: “Mmanyi, mwana wange, mmanyi. Bazzukulu ba Manasse nabo balifuuka ggwanga, era baliba bakulu. Naye muto we ye alimusinga obukulu, era bazzukulu be balifuuka mawanga mangi.” N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'agamba nti: “Mu Yisirayeli bwe banaabanga basabira omuntu omukisa, banaakozesanga amannya gammwe, nga bagamba nti: ‘Katonda akufuule nga Efurayimu ne Manasse.’ ” Bw'atyo Efurayimu n'amukulembeza Manasse. Awo Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Laba nnaatera okufa, naye Katonda anaabanga wamu nammwe, era alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe. Era ekitundu eky'e Sekemu ekigimu, kye naggya ku Baamori nga nkozesa ekitala kyange n'omutego gwange, nkiwadde ggwe, sso si baganda bo.” Awo Yakobo n'ayita batabani be n'agamba nti: “Mukuŋŋaane, mbabuulire ebiribatuukako gye bujja. Mukuŋŋaane batabani ba Yakobo, muwulire kitammwe Yisirayeli. Rewubeeni omwana wange omubereberye, ggwe maanyi gange, omwana ow'obuvubuka bwange, asinga okwekuza n'obukaali. Okulugguka ng'amazzi. Toliba mukulu, kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo n'okiweebuula. Wayingira mu buliri bwange. “Simyoni ne Leevi baaluganda, abakwata ebitala byabwe okukola eby'obukambwe. Siryetaba nabo mu nkiiko zaabwe, wadde okwegatta nabo mu nkuŋŋaana zaabwe, kubanga mu busungu bwabwe, batta abasajja, era mu ddalu lyabwe, baatema ente enteega. Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; n'ekiruyi kyabwe kikolimirwe, kubanga kikambwe. Ndibagabanyaamu mu Yakobo, ndibasaasaanyiza mu Yisirayeli. “Ggwe Yuda, baganda bo banaakutenderezanga. Abalabe bo onoobakwatanga obulago. Baganda bo banaakuvuunamiranga. Yuda oli ng'empologoma ento: okomyewo mwana wange, ng'ova mu kuyigga. Okutamye n'obwama ng'empologoma ensajja, oba ng'empologoma enkazi. Ani anaakugolokosa? Yuda ye anaakwatanga omuggo ogw'obwakabaka, era bazzukulu be, be banaafuganga, okutuusa nnannyini bwakabaka lw'alijja. Era oyo abantu gwe banaawuliranga. Alisiba omwana gw'embalaasi ye ku muzabbibu, n'endogoyi ye ento ku muzabbibu ogusinga obulungi. Ayoza ebyambalo bye mu mwenge omumyufu ogw'emizabbibu. Amaaso ge ganaamyukanga olw'okunywa omwenge gw'emizabbibu, n'amannyo ge ganaatukulanga, olw'okunywa amata. “Zebbulooni anaabeeranga kumpi n'ennyanja. Olubalama lwe lunaabanga mwalo gw'amaato. Ensalo ye eneebanga ku Sidoni. “Yissakaari ye ndogoyi ey'amaanyi, egalamira mu bisibo by'endiga. Alaba ng'ekifo ekiwummulirwamu kirungi, era nga n'ensi yeesiimisa, n'akutamya ekibegabega kye okwetikka, n'afuuka omuddu akakibwa okukola emirimu. “Daani, ng'ekimu ku bika bya Yisirayeli, aneeramuliranga abantu be. Daani anaabanga omusota mu kkubo, ogubojja embalaasi ebinuulo, agyebagadde n'awanukako n'agwa. “Nkulindiridde ondokole, ayi Mukama. Gaadi alizindibwa ekibinja ky'abanyazi, naye alibalumba n'abawondera. “Ettaka lya Aseri linaabanga ggimu eribaza emmere. Anaaleetanga enva ezisaanira kabaka. Nafutaali ye mpeewo etaayaaya, ezaala abaana baayo abalungi. “Yosefu gwe muti ogubala ennyo, oguli okumpi n'ensulo y'amazzi, amatabi gaagwo gaagaagadde waggulu w'ekisenge. Abalabe be bamulumba n'obukambwe, ne bamulasa n'obusaale bwabwe, era ne bamuyigganya. Naye omutego gwe ne gunywerera ddala, emikono gye ne giweebwa amaanyi agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo, Omusumba era Omukuumi wa Yisirayeli. Oyo Ye Katonda wa kitaawo, era Ye anaakuyambanga. Ye Muyinzawaabyonna anaakuwanga omukisa n'emikisa egiva waggulu mu ggulu, n'emikisa egiva wansi mu ttaka, n'emikisa egy'okuzaala n'okuyonsa. Emikisa gya kitaawo, gisingira ddala emikisa egy'oku nsozi ez'olubeerera n'ebirungi eby'oku busozi obutaggwaawo. Emikisa egyo gibeerenga ku mutwe gwa Yosefu, ku bisige by'oyo eyayawulibwa ku baganda be. “Benyamiini gwe musege ogunyaga. Ku makya anaalyanga by'ayizze, akawungeezi anaagabananga by'anyaze.” Ebyo byonna bye bika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli, era ebyo bye bigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu ku bo omukisa ogwamusaanira. Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti: “Ŋŋenda okutwalibwa eri bajjajjange. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efurooni Omuhiiti, e Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, mu nsi ya Kanaani. Aburahamu yagula empuku eyo wamu n'ennimiro, ku Efurooni Omuhiiti, ebe obutaka obw'okuziikangamu. Omwo mwe baaziika Aburahamu ne Saara mukazi we, mwe baaziika ne Yisaaka ne mukazi we Rebbeeka, era omwo mwe baaziika Leeya. Ennimiro n'empuku egirimu, byagulibwa ku Bahiiti.” Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'assa omukka gwe omuvannyuma, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Yosefu ne yeesuula ku kitaawe nga bw'akaaba era nga bw'amunywegera. Yosefu n'alagira abaweereza be abasawo, okukaza omulambo gwa kitaawe. Abasawo ne bakaza omulambo gwa Yisirayeli. Ne bamala ennaku amakumi ana nga bagukaza, ze nnaku ze bamala bulijjo okukaza omulambo. Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu nga bamukungubagira. Ennaku ez'okumukungubagira bwe zaggwaako, Yosefu n'agamba ab'omu nnyumba ya kabaka nti: “Mbeegayiridde muŋŋambire kabaka nga kitange bwe yandayiza nti: ‘Ndi kumpi okufa. Mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanaani, mw'olinziika.’ Kale kaakano nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende nziike kitange era ndikomawo.” Kabaka n'addamu nti: “Genda oziike kitaawo, nga bwe yakulayiza.” Awo Yosefu n'agenda okuziika kitaawe. Abaweereza ba kabaka bonna, n'abakungu b'omu lubiri lwe, n'abakungu bonna ab'omu nsi y'e Misiri, ne bagenda wamu ne Yosefu. Ab'omu nnyumba ya Yosefu bonna, ne baganda be, n'ab'omu nnyumba ya kitaawe bonna, ne bagenda naye. Abaana baabwe abato, n'endiga n'embuzi n'ente zaabwe, bye baaleka mu kitundu ky'e Goseni. N'agenda n'abaali mu magaali, n'abeebagadde ku mbalaasi, ne kiba ekibiina kinene nnyo. Bwe baatuuka mu kifo awawuulirwa eŋŋaano, eky'e Atadi emitala wa Yorudaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi nnyo. Yosefu n'amala ennaku musanvu ng'akaabira kitaawe. Abatuuze b'omu Kanaani bwe baalaba abantu abo, nga bakaabira mu kifo awawuulirwa eŋŋaano eky'e Atadi, ne bagamba nti: “Abamisiri nga bakaaba nnyo!” Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa erinnya Abeli Misurayimu. Kiri mitala wa Yorudaani. Abaana ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. Ne basitula omulambo gwe, ne bagutwala mu nsi ya Kanaani, ne baguziika mu mpuku ey'omu nnimiro y'e Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, Aburahamu gye yagulira awamu n'ennimiro, ku Efurooni Omuhiiti, okuba obutaka obw'okuziikangamu. Yosefu bwe yamala okuziika kitaawe, n'addayo mu Misiri wamu ne baganda be, ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe. Baganda ba Yosefu bwe baalaba nga kitaabwe amaze okufa, ne bagamba nti: “Oboolyawo Yosefu ajja kutukyawa, yeesasuze ekibi kye twamukola.” Ne batumira Yosefu nga bagamba nti: “Kitaffe bwe yali nga tannafa, yatugamba tukusabe nti: ‘Sonyiwa omusango n'ekibi kya baganda bo, kubanga kye baakukola kibi nnyo.’ Era kaakano tukwegayiridde, tusonyiwe ekibi kye twakola, ffe abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yosefu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebyo. Awo baganda be era ne bajja, ne bavuunama mu maaso ge, ne bagamba nti: “Tuutuno tuli baddu bo.” Naye Yosefu n'abagamba nti: “Temutya. Siyinza kweteeka mu kifo kya Katonda. Mmwe mwayagala okunkola ekibi, naye Katonda n'ayagala kiveemu ekirungi okuwonya obulamu bw'abantu abangi, abakyali abalamu kati, olw'ekyo ekyabaawo. Temubaako kye mutya. Nja kubalabiriranga mmwe, n'abaana bammwe abato.” Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo eby'ekisa. Yosefu n'abeeranga mu Misiri wamu n'ab'ennyumba ya kitaawe, n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi. N'alaba abaana n'abazzukulu ba Efurayimu. Era n'alera ku baana ba Makiri, mutabani wa Manasse. Yosefu n'agamba baganda be nti: “Ndi kumpi okufa, naye Katonda talirema kubalabirira mmwe n'okubaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo.” Awo Yosefu n'alayiza abaana ba Yisirayeli ng'abagamba nti: “Katonda talirema kubalabirira, era mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.” Bw'atyo Yosefu n'afa, ng'awezezza emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamukaza, ne bamuteeka mu ssanduuko mu Misiri. Gano ge mannya g'abaana ba Yisirayeli, abaayingira mu Misiri awamu naye, n'ab'omu maka gaabwe: Rewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda; Yissakaari, Zebbulooni, ne Benyamiini; Daani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri. Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu. Yosefu yali yabeera dda mu Misiri. Ekiseera nga kiyiseewo, Yosefu ne baganda be, n'abalala bonna ab'omu mulembe ogwo, ne bafa. Naye abazzukulu ba Yisirayeli ne bazaala, ne beeyongera nnyo obungi, ne baba ba maanyi, ne bajjula mu nsi ey'e Misiri. Awo kabaka omuggya ataamanya Yosefu, n'alya obwakabaka mu Misiri. N'agamba abantu be nti: “Mulabe, Abayisirayeli bangi nnyo, era ba maanyi okutusinga. Kale tubasalire amagezi, baleme kweyongera bungi, era singa wabaawo olutalo, baleme kwegatta na balabe baffe okutulwanyisa n'okutoloka mu nsi.” Kyebaava babateekako abakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emikakali, ne bazimbira kabaka ebibuga Pitomu ne Rameseesi, eby'okuterekangamu ebintu. Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya Abayisirayeli, n'Abayisirayeli gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne bakyawa Abayisirayeli, ne babatuntuza nnyo, ne bakalubya obulamu bwabwe nga babakozesa emirimu emikakali egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga mu nnimiro. Ne babakozesa byonna nga tebabasaasira. Kabaka w'e Misiri n'agamba abazaalisa Abeebureeyi, omu erinnya lye Sifura n'omulala Puwa nti: “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abeebureeyi, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga. Naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.” Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga kabaka w'e Misiri bwe yabalagira, naye ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu. Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti: “Lwaki mukola ekyo, ne muleka abaana ab'obulenzi nga balamu?” Abazaalisa ne bagamba kabaka nti: “Abakazi Abeebureeyi tebali nga bakazi Abamisiri, kubanga bo tebakaluubirirwa mu kuzaala: abazaalisa we babatuukirako, nga baamaze dda okuzaala.” Katonda n'awa abazaalisa abo omukisa. Abayisirayeli ne beeyongera obungi, ne baba ba maanyi nnyo. Era kubanga abazaalisa baatya Katonda, Katonda n'abawa amaka. Awo kabaka n'alagira abantu be bonna nti: “Buli mwana Omwebureeyi ow'obulenzi alizaalibwa, mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.” Awo omusajja ow'omu Kika kya Leevi, n'agenda n'awasa omukazi ow'omu lulyo lwa Leevi. Omukazi n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Bwe yalaba ng'omwana mulungi, n'amukwekera emyezi esatu. Yalaba takyayinza kwongera kumukweka, n'aleeta ekibaya eky'ebitoogo, n'akisiiga ettosi n'envumbo, n'ateekamu omwana, n'akiteeka mu kitoogo, ku lubalama lw'omugga. Mwannyina w'omwana n'ayimirira walako, alabe ekinaamutuukako. Awo muwala wa kabaka n'aserengeta ku mugga okunaaba. Abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga. N'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta. Muwala wa kabaka n'akisaanukula, n'alaba omwana. Omwana n'akaaba. N'amusaasira, n'agamba nti: “Ono y'omu ku baana Abeebureeyi!” Mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa kabaka nti: “Ŋŋende nkuyitire omukazi Omwebureeyi akuyonseze omwana oyo?” Muwala wa kabaka n'amugamba nti: “Kale genda.” Omuwala n'agenda n'ayita nnyina w'omwana. Muwala wa kabaka n'agamba omukazi nti: “Twala omwana ono omunnyonseze, ndikuwa empeera.” Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa. Omwana bwe yakula, n'amuleetera muwala wa kabaka. Muwala wa kabaka n'amufuula mutabani we, n'amutuuma erinnya Musa, ng'agamba nti: “Kubanga namuggya mu mazzi.” Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda okukyalira baganda be Abeebureeyi, n'alaba nga bwe batuntuzibwa. N'alaba n'Omumisiri ng'akuba Omwebureeyi, omu ku b'eggwanga lya Musa. Musa n'amagamaga eruuyi n'eruuyi, n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka atta Omumisiri, n'amukweka mu musenyu. Ku lunaku olwaddirira, n'addayo n'alaba abasajja Abeebureeyi babiri nga balwanagana, n'agamba oyo omusobya nti: “Kiki ekikukubizza munno?” Omusajja n'addamu nti: “Ani yakufuula omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?” Musa n'atya, n'agamba mu mutima gwe nti: “Abantu baategedde kye nakoze!” Kabaka bwe yawulira ebibaddewo, n'ayagala okutta Musa. Naye Musa n'adduka kabaka, n'agenda n'abeera mu nsi ya Midiyaani. Lwali lumu, Musa bwe yali ng'atudde okumpi n'oluzzi, abawala musanvu aba kabona w'e Midiyaani, ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero okunywesa endiga n'embuzi za kitaabwe. Abasumba ne bajja ne babagoba. Naye Musa n'asituka n'abayamba, n'anywesa eggana lyabwe. Bwe baddayo eri Reweli kitaabwe, n'agamba nti: “Nga mukomyewo mangu olwa leero!” Ne baddamu nti: “Omumisiri ye atudduukiridde n'atuwonya abasumba, era n'atusenera amazzi, n'anywesa eggana.” N'agamba bawala be nti: “Ali ludda wa? Lwaki mumuleseeyo? Mugende mumuyite, alye emmere.” Musa n'akkiriza okubeera n'omuntu oyo, Reweli n'awa Musa muwala we Zippora. Zippora n'azaala omwana ow'obulenzi, Musa n'amutuuma erinnya Gerusoomu, kubanga yagamba nti: “Mbadde mugwira mu nsi eteri yange.” Nga wayiseewo emyaka, kabaka w'e Misiri n'afa. Naye Abayisirayeli ne basigala nga bakyasinda olw'obuddu bwabwe. Ne bakaaba, era okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. Katonda n'awulira okusinda kwabwe, n'ajjukira endagaano ye gye yakola ne Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. Katonda n'alaba okubonaabona kw'Abayisirayeli, n'abalumirwa. Awo Musa yali ng'alunda eggana lya kabona w'e Midiyaani, Yetero kitaawe wa mukazi we, n'atwala eggana n'aliyisa mu ddungu, n'atuuka ku Horebu, olusozi olutukuvu. Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro oluva mu kisaka wakati. Musa n'alaba ekisaka nga kyaka, naye nga tekisiriira. Musa n'agamba nti: “Ka nsembere ndabe ekintu kino ekyewuunyisa, ekigaanye ekisaka okusiriira.” Mukama Katonda bwe yalaba nga Musa asembedde okulaba, n'amuyita nti: “Musa, Musa!” Musa n'ayitaba nti: “Nzuuno!” Katonda n'agamba nti: “Tosembera wano. Ggyamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu, ttaka ttukuvu.” Era n'agamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.” Musa ne yeebikka mu maaso, kubanga yatya okutunula ku Katonda. Awo Mukama n'agamba nti: “Ndabidde ddala okubonaabona kw'abantu bange abali mu Misiri, era mpulidde okukaaba kwabwe, nga basaba okubawonya abo ababakozesa ng'abaddu. Mmanyi obuyinike bwabwe, kyenvudde nzika okubawonya obufuzi bw'Abamisiri, n'okubaggya mu nsi eyo, mbayingize mu nsi ennungi era engazi, ensi engagga era eŋŋimu, erimu kati Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi. Ddala okukaaba kw'Abayisirayeli kutuuse gye ndi, era ndabye engeri Abamisiri gye bababonyaabonyaamu. Kale jjangu, nkutume eri kabaka w'e Misiri, oggyeyo abantu bange Abayisirayeli mu nsi ye.” Musa n'agamba Katonda nti: “Nze ani agenda eri kabaka okuggya Abayisirayeli mu Misiri?” Katonda n'addamu nti: “Ndibeera wamu naawe. Era kano ke kabonero akalikukakasa nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulinsinziza ku lusozi luno.” Musa n'agamba Katonda nti: “Bwe ndituuka eri Abayisirayeli ne mbagamba nti: ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli,’ ne bambuuza nti: ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibagamba ntya?” Katonda n'agamba Musa nti: “Nze NDI.” Bw'otyo bw'oligamba Abayisirayeli nti: “NDI ye antumye gye muli.” Katonda era n'agamba Musa nti: “Bw'otyo bw'oligamba Abayisirayeli nti: NDI, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo, ye antumye gye muli. Eryo lye linnya lyange emirembe n'emirembe, era bwe ntyo bwe nnajjukirwanga ennaku zonna. Genda okuŋŋaanye wamu abakulembeze b'Abayisirayeli, obagambe nti: ‘Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Aburahamu, owa Yisaaka, era owa Yakobo, yandabikira n'agamba nti: Nzize gye muli, era ndabye bye babakolako mu Misiri, ne nsalawo okubaggya mu Misiri gye bababonyaabonyeza, mbatwale mu nsi engagga era eŋŋimu, ey'Abakanaani n'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi.’ “Abantu bange baliwulira ky'olibagamba. Ggwe n'abakulembeze ba Yisirayeli, muligenda eri kabaka w'e Misiri, ne mumugamba nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi yatulabikira. Kale nno tukwegayiridde, tukkirize tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe.’ Mmanyi nga kabaka w'e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng'awaliriziddwa lwa maanyi. N'olwekyo ndikozesa obuyinza bwange ne nkola ebyamagero mu Misiri okugibonereza. Ebyo bwe biriggwa, alibakkiriza okugenda. “Era ndyagazisa Abayisirayeli mu Bamisiri, olwo bwe muliba muvaayo, temulivaayo ngalo nsa. Naye buli mukazi Omuyisirayeli aligenda eri muliraanwa we Omumisiri, n'eri buli mukazi Omumisiri, gw'asuza mu nnyumba, n'amusaba engoye n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu. Mulibitikka batabani bammwe ne bawala bammwe, bwe mutyo ne mutwala obugagga bw'Abamisiri.” Musa n'addamu nti: “Naye tebalinzikiriza, era tebaliwuliriza kye mbagamba, kubanga baligamba nti: ‘Mukama teyakulabikira!’ ” Mukama n'amugamba nti: “Kiki ky'okutte mu ngalo zo?” Musa n'addamu nti: “Muggo.” Mukama n'agamba nti: “Gusuule wansi.” Musa n'agusuula wansi, ne gufuuka omusota, n'agudduka. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo.” Musa n'agolola omukono gwe, n'akwata omusota, ne gufuuka omuggo mu ngalo ze. Mukama n'agamba nti: “Kola ekyo balyoke bakkirize nti Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo, akulabikidde.” Mukama n'agamba nti: “Teeka omukono gwo mu kikondoolo kyo.” Musa n'ateeka omukono gwe mu kikondoolo kye. Bwe yaguggyaamu, nga guliko ebigenge, nga mweru ng'omuzira. Mukama n'agamba nti: “Omukono gwo guzzeemu mu kikondoolo kyo.” Musa n'aguzzaamu. Bwe yaguggyaamu, nga mulamu ng'ebitundu ebirala eby'omubiri gwe. Mukama n'agamba nti: “Bwe batalikukkiriza, oba bwe batalimatizibwa kyamagero ekisoose, balikkiriza kino ekyokubiri. Awo bwe batalikkiriza byamagero bino byombiriri, era bwe baligaana okuwuliriza by'ogamba, olisena ku mazzi g'omugga n'ogayiwa ku lukalu. Amazzi ago galifuuka omusaayi ku lukalu.” Musa n'agamba Mukama nti: “Ayi Mukama, sibangako mwogezi mulungi okuva ddi na ddi, wadde okuva lwe watandise okwogera nange, kubanga soogera mangu, era ntamattama.” Mukama n'amugamba nti: “Ani yakola akamwa k'omuntu? Ani amufuula kasiru, oba kiggala? Ani amuwa okulaba oba okuba muzibe? Si ye Nze Mukama? Kale kaakano genda, ndikusobozesa okwogera, era ndikutegeeza by'olyogera.” Musa n'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, tuma omuntu omulala.” Awo Mukama n'asunguwalira Musa, n'agamba nti: “Muganda wo Arooni Omuleevi taliiwo? Mmanyi ng'ayinza okwogera obulungi. Era wuuyo ajja okukusisinkana, era bw'anaakulaba, ajja kusanyuka. Kale ggwe onooyogeranga naye, n'omutegeeza by'anaayogeranga. Nange nnaabasobozesanga mwembiriri okwogera, era nnaabategeezanga bye munaakolanga. Arooni ye anaabeeranga omwogezi wo, anaakwogereranga eri abantu. Naawe ku lulwe oliba nga Katonda, ng'omutegeeza ky'anaayogera. Twala omuggo guno, gw'olikozesa ebyamagero.” Awo Musa n'addayo eri Yetero kitaawe wa mukazi we, n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, ka nzireyo eri baganda bange mu Misiri, ndabe oba nga bakyali balamu.” Yetero n'agamba Musa nti: “Genda mirembe.” Musa bwe yali ng'akyali mu Midiyaani, Mukama n'amugamba nti: “Ddayo mu Misiri, kubanga abo bonna abaali baagala okukutta, bafudde.” Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo nabo mu nsi y'e Misiri, ng'akutte omuggo, Katonda gwe yamugamba okutwala. Musa bwe yali ng'addayo mu Misiri, Mukama n'amugamba nti: “Tolemanga kukolera mu maaso ga kabaka ebyamagero byonna bye nkuwaddeko obuyinza okukola. Naye ndikakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu kugenda. Olimugamba nti Nze Mukama ŋŋamba nti: ‘Yisirayeli ye mwana wange omuggulanda. Nkugambye nti leka omwana wange agende ampeereze, naye ggwe n'ogaana. Kale nja kutta mutabani wo omuggulanda.’ ” Mu lugendo nga basiisidde we banaasula, Mukama n'asisinkana Musa, n'ayagala okumutta. Awo Zippora muka Musa, n'akwata ejjinja ery'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akiyisa ku bigere bya Musa, n'agamba nti: “Onfuukidde baze ow'omusaayi!” Mukama n'aleka Musa. Olw'omukolo ogwo ogw'okukomola, Zippora kyeyava agamba Musa nti: “Onfuukidde baze ow'omusaayi!” Mukama n'agamba Arooni nti: “Genda mu ddungu osisinkane Musa.” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi olutukuvu, n'amunywegera. Musa n'abuulira Arooni ebyo byonna Mukama bye yamutuma, n'ebyamagero byonna, bye yamulagira okukola. Musa ne Arooni ne bagenda, ne bakuŋŋaanya abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli. Arooni n'ayogera byonna Mukama bye yagamba Musa, Musa n'akola ebyamagero mu maaso g'abantu. Abakulembeze ne bakkiriza, era bwe baawulira nti Mukama yajja eri Abayisirayeli n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bakutamya ku mitwe gyabwe, ne basinza. Ebyo bwe byaggwa, Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka w'e Misiri, ne bagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.” Kabaka n'abuuza nti: “Mukama ye ani, ndyoke mmuwulire, ndeke Yisirayeli okugenda? Nze simanyi Mukama, era sijja kuleka Yisirayeli kugenda.” Musa ne Arooni ne baddamu nti: “Katonda w'Abeebureeyi yatulabikira. Tukwegayiridde, tukkirize tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe, aleme kutussisa ndwadde ya kawumpuli oba kutussisa lutalo.” Kabaka w'e Misiri n'agamba Musa ne Arooni nti: “Lwaki mulesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende ku mirimu gyammwe.” Kabaka era n'agamba nti: “Kaakano abantu beeyongedde obungi mu ggwanga, ate mmwe mwagala kubawummuza ku mirimu gyabwe!” Ku lunaku olwo lwennyini, kabaka n'alagira abakozesa abantu n'abakulembeze baabwe nti: “Mulekere awo okuwa abantu essubi ery'okubumbisa amatoffaali. Bagende balyekuŋŋaanyize bo bennyini. Naye mubasalire bawezenga omuwendo gw'amatoffaali, nga gwe baabumbanga edda, muleme kugukendeezaako n'akatono, kubanga bagayaavu, kyebava basaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Katonda waffe.’ Abantu abo baweebwe emirimu egisingawo obukakali bagikole, baleme kuwuliriza bigambo bya bulimba.” Abakozesa b'abantu n'abakulembeze baabwe ne bagenda ne bagamba abantu nti: “Kabaka agambye nti tajja kubawa ssubi. Mmwe mwennyini mugende mulyereetere gye muyinza okulizuula. Naye omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba, tegujja kukendeerako n'akatono.” Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okukuŋŋaanya essubi. Abakozesa ne babakubiriza nti: “Muweze omuwendo gw'amatoffaali agenkanankana n'ago ge mwabumbanga buli lunaku, essubi bwe lyabangawo.” Abakozesa b'abantu ne bakuba abakulembeze b'Abayisirayeli abaateekebwawo okulabirira bannaabwe ku mulimu. Ne babagamba nti: “Lwaki olwajjo n'olwaleero temuwezezza muwendo gwa matoffaali nga ge mwabumbanga edda?” Awo abakulembeze b'Abayisirayeli ne bagenda eri kabaka, ne bamugamba nti: “Lwaki ffe abaweereza bo otuyisa bw'otyo? Tebatuwa ssubi, naye ate ne batugamba okubumba amatoffaali! Era tuutuno tukubibwa. Naye omusango guli ku bantu bo.” Kabaka n'addamu nti: “Muli bagayaavu bugayaavu! Kyemuva musaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Mukama.’ Kale kaakano muddeeyo mukole. Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bwe mubadde mukola.” Abakulembeze b'Abayisirayeli ne bategeera nga bali mu kabi, bwe baabagamba nti: “Temujja kukendeeza n'akatono ku muwendo gw'amatoffaali ogwa buli lunaku.” Bwe baali bava ewa kabaka, ne basisinkana Musa ne Arooni abaali babalindiridde. Ne bagamba Musa ne Arooni nti: “Mukama atunuulire kye mukoze, asale omusango, kubanga mutukyayisizza mu maaso ga kabaka ne mu maaso g'abaweereza be, ne mubawa kye baneekwasa batutte.” Awo Musa n'adda eri Mukama n'agamba nti: “Ayi Mukama, lwaki oyisa obubi abantu bano? Lwaki wantuma? Kubanga kasookedde nzija eri kabaka okwogera mu linnya lyo, abantu bo abayisizza bubi. Ate ggwe tolina ky'okozeewo okubawonya!” Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano onoolaba kye nnaakola kabaka, kubanga nja kumuwaliriza abaleke bagende. Ddala nja kumuwaliriza abagobe na bugobi mu nsi ye.” Katonda n'ayogera ne Musa n'amugamba nti: “Nze MUKAMA. Nalabikira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinzawaabyonna. Naye saabamanyisa linnya lyange, MUKAMA. Era nanyweza endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanaani, gye baabeerangamu ng'abayise. Era kaakano mpulidde okusinda kw'Abayisirayeli, Abamisiri be baafuula abaddu, ne nzijukira endagaano yange. Kale tegeeza Abayisirayeli nti: ‘Nze Mukama ndibanunula ne mbawonya okubonyaabonyezebwa Abamisiri, n'okuba abaddu baabwe. Ndigolola omukono gwange ogw'amaanyi, ne mbonereza Abamisiri, ne mbanunula mmwe. Ndibafuula mmwe abantu bange, era ndiba Katonda wammwe. Mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe abaggye mu kubonyaabonyezebwa Abamisiri. Ndibayingiza mu nsi, gye nalayira okuwa Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. Ndigibawa mmwe ebe obutaka bwammwe. Nze Mukama.’ ” Musa n'agamba bw'atyo Abayisirayeli, kyokka ne batamukkiriza, kubanga baali baterebuse olw'okufugibwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Genda ogambe kabaka w'e Misiri, aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye.” Musa n'agamba Mukama nti: “Olaba n'Abayisirayeli tebampulirizza, kale olwo kabaka anaampuliriza atya nze atali mwogezi mulungi?” Mukama n'alagira Musa ne Arooni nti: “Mugambe Abayisirayeli ne kabaka w'e Misiri nti mbalagidde mmwe okuggya Abayisirayeli mu nsi ey'e Misiri.” Bano be bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe: Rewubeeni omwana omubereberye owa Yisirayeli, yalina abaana be: Hanoki ne Pallu ne Hezirooni, ne Karumi. Abo be b'omu Kika kya Rewubeeni. Abaana ba Simyoni be bano: Yemweli, ne Yamini, ne Ohadi ne Yakini, ne Zohari ne Sawuuli, omwana w'omukazi Omukanaani. Abo be b'omu Kika kya Simyoni. Gano ge mannya g'abaana ba Leevi nga bwe baddiŋŋanwako mu kuzaalibwa: Gerusooni ne Kohati, ne Merari. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. Gerusooni yazaala Libuni ne Simeeyi, abaasibukamu abazzukulu abangi. Kohati yazaala Amuraamu ne Yizuhaari ne Heburooni ne Wuzziyeeli. Kohati yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu. Merari yazaala Mahuli ne Musi. Abo be b'ennyumba ya Leevi wamu ne bazzukulu baabwe. Amuraamu n'awasa Yokebedi ssengaawe, n'amuzaalira Arooni ne Musa. Amuraamu yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. Yizuhaari yazaala Koora ne Nefegi ne Zikiri. Wuzziyeeli yazaala Misayeli ne Elizafani ne Sitiri. Arooni yawasa Eliseeba, muwala wa Amminadabu era mwannyina Nahusooni, n'amuzaalira Nadabu ne Abihu ne Eleyazaari ne Yitamaari. Koora yazaala Assira ne Elukaana ne Abiyasaafu. Abo be b'omu lunyiriri lwa Koora. Eleyazaari omwana wa Arooni, n'awasa muwala wa Putiyeeli, n'amuzaalira Finehaasi. Abo be bakulu b'ennyumba n'ab'ennyiriri z'ekika kya Leevi. Abo ye Arooni ne Musa, Mukama be yagamba nti: “Muggyeeyo ebika by'Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri.” Abo be baagamba kabaka w'e Misiri okuggya Abayisirayeli mu Misiri. Ku lunaku Mukama lwe yayogera ne Musa mu nsi y'e Misiri, Mukama yagamba Musa nti: “Nze MUKAMA. Tegeeza kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.” Musa n'agamba Mukama nti: “Nzuuno siri mwogezi mulungi, kale kabaka anampuliriza atya?” Mukama n'agamba Musa nti: “Kale nja kuteekawo muganda wo Arooni akwogerere. Ye alibuulira kabaka ebyo by'oyagala okumutegeeza. Olitegeeza Arooni muganda wo buli kye nkulagira, ye n'ategeeza kabaka, aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye. Naye nze ndikakanyaza omutima gwa kabaka, ne bwe ndyongera okukola ebyamagero n'ebyewuunyo mu nsi y'e Misiri, kabaka talibawuliriza. Ndibonereza nnyo Misiri, ne nzigya ebika by'abantu bange Abayisirayeli mu nsi eyo. N'Abamisiri balimanya nga Nze Mukama, bwe ndibonereza Misiri, ne nzigyayo Abayisirayeli mu bo.” Musa ne Arooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Ekiseera kye baayogereramu ne kabaka, Musa yali aweza emyaka kinaana, ate Arooni yali wa myaka kinaana mu esatu egy'obukulu. Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Kabaka bw'alibagamba nti: ‘Mukoleewo ekyamagero,’ ggwe Musa oligamba Arooni nti: ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga kabaka gufuuke omusota.’ ” Awo Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga kabaka n'ag'abakungu be, ne gufuuka omusota. Kabaka n'ayita abagezigezi n'abalogo Abamisiri, nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama. Buli omu n'asuula wansi omuggo gwe, ne gufuuka omusota. Naye omuggo gwa Arooni ne gumira egyabwe. Kabaka n'asigala ng'akyakakanyazizza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Omutima gwa kabaka mukakanyavu, agaanye okuleka abantu okugenda. Kale genda omusisinkane ku makya, ng'afuluma okulaga ku mugga. Twala omuggo ogwafuuka omusota, omulindirire ku lubalama lw'omugga. Omugambe nti: ‘Mukama Katonda w'Abayisirayeli antumye gy'oli okukugamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze mu ddungu. Naye n'okutuusa kaakano towulira. N'olwekyo Mukama agamba bw'ati nti: Ku kino kw'olimanyira nga Nze MUKAMA. Laba, omuggo gwe nkutte, nja kugukuba ku mazzi agali mu mugga, gafuuke omusaayi. Ebyennyanja bijja kufa, omugga guwunye, Abamisiri batamwe okunywa amazzi ag'omu mugga.’ ” Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: ‘Twala omuggo gwo, ogugolole ku mazzi ag'omu Misiri: ku migga ne ku myala, ne ku bidiba, ne ku nzizi zaabwe zonna ez'amazzi, amazzi gafuuke omusaayi, gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, okutuukira ddala ne mu ntiba ez'emiti ne mu nsuwa ez'amayinja.’ ” Musa ne Arooni ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'agolola omuggo, n'akuba ku mazzi ag'omu mugga, nga kabaka n'abakungu be balaba, amazzi gonna ag'omu mugga ne gafuuka omusaayi. Ebyennyanja eby'omu mugga ne bifa, omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa mazzi gaamu. Ne waba omusaayi mu nsi yonna ey'e Misiri. Naye abasawo Abamisiri nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama. Kabaka n'asigala ng'akyakakanyazizza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye. Kabaka n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye, nga ne bino tabifuddeeko n'akatono. Abamisiri bonna ne basima okumpi n'omugga, bafune amazzi ag'okunywa, kubanga baali tebayinza kunywa mazzi ga mu mugga. Ne wayitawo ennaku musanvu Mukama ng'amaze okukuba omugga. Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka omugambe nti: Mukama agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze. Naye bw'onoogaana okubaleka okugenda, nja kubonereza ensi yo, nga ngisindikamu ebikere. Omugga gujja kujjula ebikere biveeyo biyingire mu nnyumba yo, ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku buliri bwo, ne mu nnyumba z'abakungu bo, ne mu z'abantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo ebigoyerwamu. Bijja kukuwalampa ggwe, n'abantu bo, era n'abakungu bo.” Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: Kwata omuggo gwo, ogugolole ku migga ne ku myala, ne ku bidiba, ebikere biveeyo birumbe ensi y'e Misiri.” Arooni n'agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri, ebikere ne bifubutukayo, ne bibikka ensi y'e Misiri. Naye abasawo nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama, ebikere ne bifubutukayo, ne birumba ensi y'e Misiri. Awo kabaka n'ayita Musa ne Arooni, n'agamba nti: “Musabe Mukama anzigyeko ebikere, nze n'abantu bange, nja kuleka abantu bagende baweeyo ebitambiro eri Mukama.” Musa n'agamba kabaka nti: “Londa ekiseera mwe mba nkusabira ggwe, n'abakungu bo, n'abantu bo, ebikere biryoke bibaveeko mmwe, era bive ne mu nnyumba zammwe, bisigale mu mugga mwokka.” Kabaka n'agamba nti: “Nsabira ku lunaku olwenkya.” Musa n'agamba nti: “Kale nja kukola nga bw'ogambye, olyoke omanye nga tewali mulala ali nga Mukama Katonda waffe. Ebikere bijja kukuvaako ggwe, bive ne mu nnyumba zo, ne ku bakungu bo, ne ku bantu bo, bisigale mu mugga mwokka.” Musa ne Arooni ne bava ewa kabaka, Musa n'asaba Mukama aggyewo ebikere, bye yali asindikidde kabaka. Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba. Ebikere ebyali mu nnyumba, ne mu mpya, ne mu nnimiro, ne bifa. Abamisiri ne babikuŋŋaanya entuumu n'entuumu, ensi n'ewunya. Naye kabaka bwe yalaba ng'afunye akalembereza, n'akakanyaza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: ‘Golola omuggo gwo okube ku ttaka, enfuufu efuuke obutugu mu nsi yonna ey'e Misiri.’ ” Ne bakola bwe batyo. Arooni n'agolola omuggo gwe, n'akuba ku ttaka, enfuufu yonna ey'omu nsi ey'e Misiri n'efuuka obutugu, ne bugwa ku bantu ne ku nsolo. Abasawo nabo ne bakozesa amagezi gaabwe ag'ekyama okuleeta obutugu, naye ne balemwa. Obutugu ne bubuna buli wantu ku bantu ne ku nsolo. Abasawo ne bagamba kabaka nti: “Katonda ye akoze kino.” Naye kabaka n'akakanyaza omutima gwe, era n'atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye. Mukama n'agamba Musa nti: “Enkya golokoka mu matulutulu, ogende osisinkane kabaka, ng'afuluma okulaga ku mugga, omugambe nti: ‘Mukama agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze. Naye bw'otoobaleke kugenda, nja kukuleetera ebibinja by'ensowera, ggwe n'abakungu bo n'abantu bo. Ennyumba zo n'ez'Abamisiri n'ettaka kwe ziri, bijja kujjula ebibinja by'ensowera. Naye ku lunaku olwo nja kutaliza ekitundu ky'e Goseni, abantu bange mwe babeera, ebibinja by'ensowera bireme kubeerayo, olyoke omanye nga Nze MUKAMA, mu nsi eno mwendi. Nja kwawulamu abantu bange mu babo. Ekyamagero ekyo kijja kubeerawo enkya.’ ” Mukama bw'atyo n'asindika ebibinja by'ensowera ebinene, ne bijja mu nnyumba ya kabaka, ne mu nnyumba z'abakungu be. Ensi yonna ey'e Misiri n'efaafaagana olw'ensowera! Kabaka n'ayita Musa ne Arooni n'agamba nti: “Mugende muweeyo ebitambiro eri Katonda wammwe, naye mubiweereyo mu nsi eno.” Musa n'addamu nti: “Si kirungi okukola ekyo, kubanga tujja kuwaayo eri Mukama Katonda waffe eby'omuzizo mu Bamisiri. Bwe tunaawaayo eby'omuzizo ebyo ng'Abamisiri batulaba, tebaatukube amayinja ne batutta? Ka tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe, nga bw'anaatulagira.” Kabaka n'agamba nti: “Nja kubaleka mugende mu ddungu muweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda wammwe, bwe muba nga temuugende wala nnyo. Munsabire.” Musa n'agamba nti: “Olunaava mu maaso go, nga nsaba Mukama nti enkya ebibinja by'ensowera bibaggyibweko: ggwe n'abakungu bo, n'abantu bo. Wabula lema kwongera kutulimba ng'ogaana abantu okugenda okuwaayo ebitambiro eri Mukama.” Musa n'ava mu maaso ga kabaka, n'asaba Mukama. Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba. N'aggyirawo kabaka n'abakungu be n'abantu be ebibinja by'ensowera, ne watasigala nsowera n'emu. Ne ku mulundi ogwo, kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka bantu kugenda. Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka omugambe nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze. Bw'onooyongera okubagaana okugenda, Nze MUKAMA nja kukubonereza nga nsindika obulwadde obw'akabi ennyo mu magana go, agali mu malundiro: embalaasi n'endogoyi, eŋŋamiya n'ente, endiga era n'embuzi. Nja kwawulamu ensolo z'Abayisirayeli n'ezo ez'Abamisiri, waleme kufa n'emu ku z'Abayisirayeli.’ ” Mukama n'assaawo ekiseera ng'agamba nti: “Enkya, nze MUKAMA nja kukola ekyo mu ggwanga.” Bwe bwakya enkya, Mukama n'akola ekyo kye yagamba: ensolo zonna ez'Abamisiri ne zifa. Naye ku z'Abayisirayeli ne kutafa n'emu. Kabaka n'atuma okubuuza ekibaddewo, ne bamutegeeza nti mu magana g'Abayisirayeli tewali wadde nsolo emu efudde. Naye kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka bantu kugenda. Awo Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Mutwale embatu z'evvu ery'omu kyoto, Musa alimansize waggulu nga kabaka alaba. Lijja kufuumuuka ng'enfuufu, libune mu nsi yonna ey'e Misiri, era buli wantu mu Misiri lireete ku bantu ne ku nsolo amayute agaabika ne gafuuka amabwa.” Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga kabaka. Musa n'alimansa waggulu. Ne lireeta ku bantu ne ku nsolo amayute agaayabika ne gafuuka amabwa. Abasawo ne batayinza kulabikako mu maaso ga Musa, kubanga baali bajjudde amayute ng'Abamisiri abalala bonna. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye Musa. Mukama n'agamba Musa nti: “Ogolokoka enkya mu makya, n'ogenda eri kabaka, n'omugamba nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze. Ku mulundi guno nja kukubonereza nnyo ggwe, n'abakungu bo n'abantu bo, olyoke omanye nga tewali mulala ali nga nze mu nsi yonna, kubanga kaakano nandisobodde okukozesa obuyinza bwange ne nkusindikira ggwe n'abantu bo obulwadde bwa kawumpuli ne bubazikiriza ku nsi; naye okukulaga obuyinza bwange, nkulese ng'oli mulamu, ndyoke ngulumizibwe mu nsi yonna. N'okutuusa kaakati okyagugubye, n'ogaana abantu bange okugenda? Kale, enkya mu kiseera nga kino, nja kutonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebeerawo. Kale kaakano lagira bayingize amagana n'ebintu byo byonna ebiri ebweru, omuzira gujja kukuba era gutte buli kiramu ekinaasangibwa ebweru nga tekiyingiziddwa mu nnyumba, k'abe muntu oba nsolo.’ ” Mu bakungu ba kabaka, buli eyatya ebyo Mukama bye yayogera, n'addusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba. Naye abataatya ebyo Mukama bye yayogera, ne baleka abaddu baabwe n'amagana gaabwe ebweru. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe mu nsi yonna ey'e Misiri, ku bantu ne ku nsolo, ne ku bimera byonna ebiri mu nnimiro.” Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu. Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi. Mukama n'atonnyesa omuzira mu nsi ey'e Misiri. Ne waba omuliro ogwakira mu muzira omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebaawo ng'eggwanga. Mu nsi yonna ey'e Misiri omuzira ne gukuba buli kintu ekyali wabweru, nga mw'otwalidde abantu n'ensolo. Ne gukuba ebimera byonna mu nnimiro, era ne gumenya emiti gyonna. Ekitundu ky'e Goseni, Abayisirayeli mwe baali, kye kyokka ekitaalimu muzira. Awo kabaka n'atumya Musa ne Arooni, n'abagamba nti: “Ku mulundi guno nsobezza, Mukama ye mutuufu. Nze n'abantu bange ffe basobya. Musabe Mukama, akomye okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira. Nja kubaleka mugende muleme kwongera kusigala wano.” Musa n'agamba nti: “Olunaava mu kibuga nga ngolola emikono gyange eri Mukama. Okubwatuka kunaakoma, n'omuzira gujja kuggwaawo, olyoke omanye ng'ensi ya Mukama. Naye mmanyi nga ggwe n'abakungu bo temunnaba kutya Mukama Katonda.” Obugoogwa ne bbaale ne bizikirizibwa, kubanga bbaale yali atandika okubala, n'obugoogwa nga busansudde. Naye tewaaliwo ŋŋaano yazikirizibwa, yo yali nga tennamera. Musa n'ava awali kabaka n'afuluma ekibuga, n'agolola emikono gye eri Mukama, okubwatuka n'omuzira ne bikoma, n'enkuba n'erekera awo okutonnya. Naye kabaka bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira era n'okubwatuka bikomye, n'ayongera okwonoona. Ye n'abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe. Era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa, kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka Bayisirayeli kugenda. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka, kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abakungu be, ndyoke nkole ebyamagero byange bino mu bo, ggwe osobole okubuulira abaana bo ne bazzukulu bo bye nkoze Abamisiri, n'ebyamagero bye nkoze ku bo, mulyoke mumanye nga Nze MUKAMA.” Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bamugamba nti: “Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: ‘Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende bampeereze. Naye bw'onoogaana okuleka abantu bange okugenda, enkya nja kuleeta enzige mu nsi yo, zibikkire ddala ensi ereme okulabika. Zijja kulya byonna, omuzira bye gutaazikiriza, n'emiti gyonna egiri mu nnimiro zammwe. Era zijja kujjuza ennyumba zo n'ennyumba z'abakungu bo, n'ez'Abamisiri bonna. Enzige ezo zijja kuba mbi okusinga ezo bakitammwe ne bajjajjammwe ze baali balabyeko mu biseera byabwe n'okutuusa kaakano.’ ” Musa n'akyuka n'ava awali kabaka. Abakungu ba kabaka ne bamugamba nti: “Omusajja ono alituusa wa okututawaanya? Leka abantu bagende baweereze Mukama Katonda waabwe. Tonnamanya nga Misiri ezikiridde?” Awo Musa ne Arooni ne bazzibwa mu maaso ga kabaka, n'abagamba nti: “Kale mugende muweereze Mukama Katonda wammwe. Naye b'ani abanaagenda?” Musa n'addamu nti: “Ffenna tujja kugenda wamu n'abaana baffe abato, n'abantu baffe abakadde, n'abaana baffe ab'obulenzi n'ab'obuwala. Era tujja kutwala endiga zaffe n'ente zaffe, kubanga tuteekwa okukolera Mukama embaga.” Kabaka n'abagamba nti: “Ndayira Mukama nti sijja kubaleka kugenda na bakazi bammwe na baana bammwe. Kirabika nga mulina olukwe lwe mutegeka. Nedda, abasajja mwekka mmwe muba mugenda muweereze Mukama, kubanga ekyo kye mwagala.” Musa ne Arooni ne bagobebwa mu maaso ga kabaka. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri, enzige zijje zizinde ensi ey'e Misiri, zirye buli kimera kyonna ekyawonawo mu muzira.” Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga eyava ebuvanjuba, n'ekunta ku nsi, emisana n'ekiro ku lunaku olwo. Bwe bwakya enkya, embuyaga eyo n'ereeta enzige. Enzige ennyingi bwe zityo zaali tezirabibwangako era teziriddayo kulabibwa nate. Zaabikka ensi yonna ey'e Misiri, ne zigiddugaliza ddala. Ne zirya buli kimera kyonna, n'ebibala eby'oku miti ebyawonawo mu muzira, ne watasigala kikoola na kimu ekibisi ku muti, wadde ku kimera ekirala kyonna, mu nsi yonna ey'e Misiri. Kabaka n'ayita mangu Musa ne Arooni, n'agamba nti: “Nkoze ekibi mu maaso ga Mukama ne mu maaso gammwe. Kale kaakano mbeegayiridde munsonyiwe ekibi kyange omulundi gumu gwokka, era musabe Mukama Katonda wammwe, anzigyeko olumbe luno.” Musa n'ava awali kabaka, n'asaba Mukama. Mukama n'aleeta embuyaga ey'amaanyi ennyo eyava ebugwanjuba, n'etwala enzige, n'ezisuula mu Nnyanja Emmyufu, ne watasigala nzige n'emu mu nsi yonna ey'e Misiri. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka Bayisirayeli kugenda. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza ekikutte bezzigizigi kibe ku nsi ey'e Misiri.” Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu, ekizikiza ekikutte ne kibikka ensi yonna ey'e Misiri, okumala ennaku ssatu. Abamisiri ne batasobola kulabagana, era tewali yava mu kifo mwe yali, okumala ennaku ssatu. Naye Abayisirayeli baalina ekitangaala ewaabwe gye baabeeranga. Kabaka n'ayita Musa n'agamba nti: “Mugende muweereze Mukama. Abaana bammwe abato nabo bagende nammwe. Endiga n'embuzi ze ziba zisigala.” Musa n'agamba nti: “Era oteekwa okutuwa ensolo ez'okutambira, n'ez'okuwaayo nga nnamba eri Mukama Katonda waffe. Amagana gaffe nago gateekwa okugenda naffe, tewali nsolo n'emu gye tunaaleka, kubanga tuteekwa okulondamu ensolo ezeetaagibwa mu kuweereza Mukama Katonda waffe. Era tetumanyi nsolo ziryetaagibwa mu kuweereza Mukama, okutuusa lwe tulimala okutuukayo.” Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'atabaleka kugenda. N'agamba Musa nti: “Va we ndi! Weekuume, oleme kudda mu maaso gange mulundi mulala, kubanga ku lunaku lw'olirabika mu maaso gange, ogenda kufa.” Musa n'agamba nti: “Oyogedde bulungi. Sijja kuddayo kulabika mu maaso go.” Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kusindikira kabaka w'e Misiri n'abantu be ekibonerezo ekirala kimu kyokka, oluvannyuma ajja kubaleka mugende, abagobe na bugobi muno. Kaakano yogera eri Abayisirayeli, ogambe abasajja n'abakazi, basabe baliraanwa baabwe, babawe ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.” Mukama n'awa Abayisirayeli okwagalibwa mu Bamisiri. Naddala abakungu ba kabaka n'abantu bonna, ne balaba nga Musa mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri. Awo Musa n'agamba kabaka nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga mu ttumbi, nja kuyita mu Misiri, era abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi mu nsi ey'e Misiri bajja kufa, okuva ku wa kabaka atuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku w'omuzaana asa ku lubengo. N'abaana b'ensolo ababereberye nabo bajja kufa. Wajja kubaawo okukuba ebiwoobe mu nsi yonna ey'e Misiri okutabangawo, era okutaliddayo kubaawo. Naye tewajja kuba wadde embwa eboggolera n'omu mu Bayisirayeli oba ensolo zaabwe, mulyoke mumanye nti nze MUKAMA ayawula Abamisiri ku Bayisirayeli.’ Abakungu bo bano bonna bajja kujja gye ndi banvuunamire nga bagamba nti: ‘Genda n'abantu bo bonna b'okulembera.’ Ebyo nga biwedde, nja kugenda.” Musa n'ava awali kabaka n'obusungu bungi. Mukama n'agamba Musa nti: “Kabaka tajja kubawuliriza, ndyoke nnyongere okukola ebyamagero mu nsi ey'e Misiri.” Musa ne Arooni ne bakola ebyamagero bino byonna mu maaso ga kabaka. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu ba Yisirayeli kuva mu nsi ye. Mukama n'agamba Musa ne Arooni mu nsi ey'e Misiri nti: “Omwezi guno munaagubalanga nga gwe mukulu mu myezi, era nga gwe mubereberye mu mwaka gwammwe. Mutegeeze ekibiina kyonna ekya Yisirayeli nti ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, buli ssemaka alonde endiga ento olw'ab'omu maka ge, endiga ento emu buli maka. Ab'omu maka ge bwe baba abatono nga tebaamaleewo ndiga nto eyo, beegatta n'ab'omu maka ga muliraanwa we, okusinziira ku bantu nga bwe benkana obungi, ne ku buli omu nga bw'asobola okulya. Muyinza okulonda endiga ento oba embuzi ento eya sseddume, nga ya mwaka gumu, era nga teriiko kamogo. Mugikuume okutuuka ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, olwo eya buli maka eryoke ettibwe olweggulo ng'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli kikuŋŋaanye. Abantu batoole ku musaayi basiige ku myango gyombi egy'enzigi, ne waggulu w'enzigi ez'ennyumba mwe banaaguliira. Balye ennyama yaagwo mu kiro ekyo nga njokye, era bagiriireko emigaati egitazimbulukusiddwa, n'enva ezikaawa. Temugirya nga mbisi oba nga nfumbe mu mazzi, wabula nga njokye yonna ku muliro: n'omutwe n'ebigere, n'ebyomunda. Era temubaako gye mulekawo okutuusa enkya. Bwe wabaawo esigaddewo, mugisaanyeewo n'omuliro. Munaagirya mangu mangu, nga mwetegekedde olugendo: nga mwesibye ebimyu, nga mwambadde n'engatto mu bigere, era nga mukutte n'omuggo mu ngalo. Eyo y'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako kwa Mukama, kubanga mu kiro ekyo nja kuyita mu nsi ey'e Misiri, nzite buli mwana omuggulanda ow'abantu n'ow'ensolo, era mbonereze balubaale bonna ab'e Misiri, Nze Mukama. Bwe nnaaba mbonereza ensi ey'e Misiri, omusaayi ku myango gy'enzigi, gwe gunaaba akabonero akalaga ennyumba ze mulimu. Bwe nnaalaba omusaayi, mbayiteko mmwe nneme kubakolako kabi. Olunaku olwo munaalukuumanga okujjukira ebyo Nze Mukama bye nkoze. Munaalukuumanga ennaku zonna, nga lunaku lukulu, era nga lwa tteeka ery'olubeerera. “Okumala ennaku musanvu, munaalya migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'olubereberye, munaggya ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga mu nnaku ezo omusanvu, buli anaalya emigaati egizimbulukusiddwa, anaaba takyabalirwa mu Bayisirayeli. Ku lunaku olw'olubereberye n'olw'omusanvu, munaakuŋŋaana okusinza. Tewaabe mirimu gikolebwa mu nnaku ezo, okuggyako egyetaagisa okuteekateeka emmere gye munaalya. “Mukuumanga Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, kubanga ku lunaku olwo lwennyini lwe nnaggyirako ebika byammwe mu nsi ey'e Misiri, kyemunaavanga mulukuuma ennaku zonna nga lwa tteeka ery'olubeerera. Okuva mu kawungeezi ak'olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi omubereberye, okutuusa ku kawungeezi ak'olunaku olw'amakumi abiri mu olumu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. Mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa tekiibeerenga mu nnyumba zammwe, kubanga buli alirya ekizimbulukusiddwa, k'abe mugwira oba mwana nzaalwa, aliba takyabalirwa mu kibiina kya Yisirayeli. Temuulyenga kizimbulukusiddwa; naye mu maka gammwe, mulyenga migaati egitazimbulukusiddwa.” Musa n'ayita abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli, n'abagamba nti: “Buli omu mu mmwe alonde omwana gw'endiga oba embuzi ento, amaka gakuze Okuyitako. Munaakwata akaganda k'obuti obuyitibwa yisopo, ne mukannyika mu musaayi oguli mu kibya, mugusiige ku myango gyombi egy'enzigi, ne waggulu w'enzigi z'ennyumba zammwe. Tewaba n'omu ku mmwe afuluma nnyumba ye, okutuusa ku makya. Mukama bw'anaayita okutta Abamisiri, n'alaba omusaayi waggulu w'enzigi ne ku myango gyombi, anaayita ku mulyango, n'ataleka muzikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe kubatta. Ekyo linaabanga tteeka, mmwe n'abaana bammwe lye munaakuumanga ennaku zonna. Awo bwe muliba mutuuse mu nsi, Mukama gy'alibawa nga bwe yasuubiza, munaakuumanga omukolo ogwo. Abaana bammwe bwe banaababuuzanga nti: ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ Munaddangamu nti: ‘Kye kitambiro eky'Okuyitako kwa Mukama, kubanga yayita ku nnyumba z'Abayisirayeli mu Misiri, bwe yatta Abamisiri, naye n'ataliza ennyumba zaffe.’ ” Abayisirayeli ne bakutamya emitwe gyabwe ne basinza. Awo ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Arooni. Awo mu ttumbi, Mukama n'atta abaana bonna abaggulanda ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mwana omuggulanda owa kabaka eyali atudde ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku mwana ow'omusibe mu kkomera. Era n'abaana ababereberye ab'ensolo nabo ne bafa. Mu kiro ekyo kabaka n'abakungu be era n'Abamisiri bonna ne bagolokoka. Ne wabaawo okukuba ebiwoobe mu Misiri, kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu. Mu kiro ekyo kabaka n'ayita Musa ne Arooni n'agamba nti: “Musituke, muve mu bantu bange, mmwe mwembi n'Abayisirayeli, mugende muweereze Mukama, nga bwe mwasaba. Mutwale endiga n'embuzi n'ente zammwe nga bwe mwasaba, mugende. Nange munsabire omukisa.” Abamisiri ne bakubiriza abantu banguwe okuva mu Misiri, kubanga baagamba nti: “Tujja kufa ffenna!” Abantu ne bajjuza ebibbo byabwe obuwunga obw'eŋŋaano obugoyeddwa, naye nga tebuzimbulukusiddwa, ebibbo ne babisiba mu ngoye zaabwe, ne basitulira ku bibegabega byabwe. Abayisirayeli baali bakoze nga Musa bwe yabagamba: nga basabye Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu era n'engoye. Mukama n'abawa okwagalibwa mu Bamisiri, ne babawa bye baasaba. Bwe batyo Abayisirayeli ne batwala ebyobugagga by'Abamisiri. Abayisirayeli ne batambuza bigere okuva e Rameseesi okutuuka e Sukkoti. Baali abasajja emitwalo nga nkaaga, nga tobaze bakazi na baana. Abantu bangi nnyo ab'ekintabuli ne bagenda wamu nabo, n'amagana g'endiga n'embuzi n'ente. Ne bafumba emigaati egitazimbulukusiddwa, nga batoola ku buwunga obugoyeddwa, bwe baggya mu Misiri, kubanga baagobwa mangu mu Misiri nga tebannaba kubuteekamu kizimbulukusa, era nga tebannaba kwefumbira mmere. Abayisirayeli baali bamaze emyaka ebikumi bina mu asatu mu Misiri. Ku lunaku olwo lwennyini emyaka egyo ebikumi ebina mu asatu lwe gyaggwaako, ebika byonna eby'abantu ba Mukama ne biryoka biva mu Misiri. Kyali ekiro Mukama kye yakuumiramu okubaggya mu Misiri. N'olwekyo ekiro ekyo kyennyini kinaakuumibwanga Abayisirayeli nga kya Mukama mu biseera byabwe byonna eby'omu maaso. Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Gano ge mateeka ag'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Omugwira taagiryengako. Naye omuddu gwe mwagula anaagiryangako, nga mumaze kumukomola. Omugenyi n'omukozi akolera empeera, nabo tebaagiryengako. Eneeriirwanga mu nnyumba mw'eteekeddwateekeddwa. Temuufulumyenga bweru wa nnyumba ku nnyama ya mbaga eyo, era temuumenyenga ggumba na limu ery'ennyama eyo. Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli kinaakuzanga embaga eno. Naye omusajja atali mukomole taagiryengako. Omugwira asenze mu mmwe, bw'anaayagalanga okukuza Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, okugulumiza Mukama, abasajja bonna ab'omu maka ge, banaamalanga kukomolebwa. Olwo anaayisibwanga ng'Omuyisirayeli enzaalwa, n'akkirizibwa okugikuza. Naye atali mukomole, taagiryengako. Amateeka ago ganaakuumibwanga Abayisirayeli enzaalwa, n'abagwira abasenze mu mmwe.” Abayisirayeli bonna ne bawulira, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Arooni. Ku lunaku olwo Mukama n'aggya ebika by'Abayisirayeli mu nsi ey'e Misiri. Mukama n'agamba Musa nti: “Onompanga abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi. Mu Bayisirayeli buli mwana ow'obulenzi omuggulanda wange. Era n'ensolo ennume esooka okuzaalibwa yange.” Musa n'agamba abantu nti: “Mujjukirenga olunaku luno lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugirwamu obuddu. Mukama yabaggya mu nsi eyo ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi. Ku lunaku luno temuulyenga migaati gizimbulukusiddwa. Ku lunaku luno mu mwezi ogwa Abibu, lwe munaagenda. Mukama bw'alibatuusa mu nsi y'Abakanaani n'Abahiiti, n'Abahiivi, n'Abayebusi, gye yalayirira bajjajjammwe nti aligibawa mmwe, ensi engagga era engimu, munaakolanga omukolo guno mu mwezi guno. Okumala ennaku musanvu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, era ku lunaku olw'omusanvu, wanaabangawo embaga okugulumiza Mukama. Emigaati egitazimbulukusiddwa gye ginaaliibwanga mu nnaku ezo omusanvu. Tewaabenga migaati gizimbulukusiddwa, wadde ekizimbulukusa mu nsi yammwe yonna. Ku lunaku olwo, munannyonnyolanga abaana bammwe nti: ‘Kino tukikola olw'ebyo Mukama bye yatukolera bwe twava mu Misiri.’ Kino kinaabanga ng'akabonero akateekeddwa ku mukono gwo oba mu kyenyi kyo, kikujjukizenga okwatulanga amateeka ga Mukama, ge wayiga, kubanga Mukama yakuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi. Buli mwaka kyonoovanga okuuma etteeka lino mu biseera byalyo ebyaliteekerwawo. “Mukama bw'alibatuusa mu nsi y'Abakanaani nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajjammwe nti aligibawa, munaawangayo eri Mukama abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi. Abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi banaabanga ba Mukama, era n'ensolo eza sseddume ezisooka okuzaalibwa, zinaabanga zize. Naye omwana gw'endogoyi ogwa sseddume ogusooka okuzaalibwa, munaagununulanga nga muwaayo omwana gw'endiga. Era oba nga temwagala kugununula, mugumenyanga ensingo. Era munaanunulanga abaana bammwe abaggulanda bonna ab'obulenzi. Era mu biseera ebijja, abaana bammwe bwe banaababuuzanga nti: ‘Kino kitegeeza ki?’ Munaabaddangamu nti: ‘Mukama yakozesa obuyinza bwe obw'amaanyi n'atuggya mu Misiri, mwe twafugirwanga obuddu. Kabaka w'e Misiri bwe yaguguba, n'agaana okutuleka okugenda, Mukama n'atta mu nsi y'e Misiri abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi, n'ensolo zonna eza sseddume ezisooka okuzaalibwa. Kyetuva tuwaayo ekitambiro eri Mukama ekya buli kisolo ekya sseddume ekisooka okuzaalibwa, naye ne tununula abaana baffe abaggulanda bonna ab'obulenzi.’ Era ekyo kinaabanga ng'akabonero akateekebwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi byammwe, okubajjukizanga nga Mukama bwe yabaggya mu Misiri, ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi.” Awo kabaka w'e Misiri bwe yamala okuleka abantu okugenda, Katonda n'atabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y'Abafilistiya, newaakubadde nga lye lyali ery'okumpi, kubanga Katonda yagamba nti: “Sikulwa ng'abantu bakyusa ebirowoozo byabwe, ne baddayo e Misiri, bwe baliraba nga bateekwa okulwana.” Kyeyava abeekooloobesa mu kkubo ery'omu ddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu. Abayisirayeli baava mu nsi ey'e Misiri nga balina ebyokulwanyisa. Bwe baali nga bagenda, Musa n'atwala amagumba ga Yosefu, nga Yosefu bwe yalayiza Abayisirayeli ng'agamba nti: “Katonda bw'alibanunula, mutwalanga amagumba gange nga muva wano.” Abayisirayeli ne bava mu Sukkoti nga batambula, ne basula mu Etamu, ku nsalo n'eddungu. Emisana Mukama n'abakulemberamu ng'ali mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, ekiro n'abakulemberamu ng'ali mu mpagi ey'omuliro okubawa ekitangaala, balyoke basobole okutambula emisana n'ekiro. Bulijjo empagi ey'ekire yabakulemberangamu emisana, empagi ey'omuliro n'ebakulemberangamu ekiro. Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli badde emabega, basiisire mu maaso ga Pihahirooti, wakati wa Migidooli n'Ennyanja Emmyufu, okumpi ne Baali Zefoni. Kabaka w'e Misiri ajja kulowooza nti Abayisirayeli batambulatambula mu nsi nga tebalina gye badda, eddungu libasibye. Nja kukakanyaza kabaka omutima abawondere, ndyoke mpangule kabaka n'eggye lye, nneefunire ekitiibwa. N'Abamisiri balimanya nga Nze MUKAMA.” Abayisirayeli ne bakola bwe batyo. Kabaka w'e Misiri bwe baamubuulira nti abantu badduse, ye n'abakungu be ne bakyusa ekirowoozo, ne bagamba nti: “Kiki kino kye tukoze? Tulese Abayisirayeli bagende, baleme kutuweereza?” Awo kabaka n'ateekateeka amagaali ge n'eggye lye. N'atwala amagaali gonna ag'e Misiri, omuli n'ago olukaaga, agasingira ddala obulungi, nga gaduumirwa abakulu b'abaserikale. Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka w'e Misiri, n'awondera Abayisirayeli abaagenda nga beewaana. Eggye ly'Abamisiri wamu n'embalaasi zonna eza kabaka n'amagaali ge, n'abeebagadde embalaasi, ne babawondera, ne babatuukako nga basiisidde okumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pihahirooti, mu maaso ga Baali Zefoni. Abayisirayeli bwe baayimusa amaaso gaabwe, ne balaba kabaka w'e Misiri n'eggye lye nga babawondera, era nga basembedde, ne batya, ne bakaabirira Mukama abayambe. Ne bagamba Musa nti: “Mu Misiri temwali ntaana, kyewava otuleeta tufiire mu ddungu? Wagenderera ki okutuggya mu Misiri? Kino si kye twakugamba nga tukyali mu Misiri nti tuleke tuweereze Abamisiri? Waakiri okuweereza Abamisiri, okusinga okufiira mu ddungu!” Musa n'agamba abantu nti: “Temutya! Muyimirire buyimirizi mulyoke mulabe Mukama ky'anaakola okubalokola olwaleero, kubanga Abamisiri be mulaba kaakano, temuliddayo kubalabako nate. Mukama ajja kubalwanirira mmwe. Mubeere bakkakkamu.” Mukama n'agamba Musa nti: “Lwaki onsaba obuyambi? Gamba Abayisirayeli bagende mu maaso. Era situla omuggo gwo, ogugolole ku nnyanja, ogyawulemu wabiri, Abayisirayeli bagiyitemu nga nkalu. Nze nja kukakanyaza emitima gy'Abamisiri, bagiyingire okubawondera, ndyoke nneefunire ekitiibwa nga mpangudde kabaka n'eggye lye lyonna: amagaali ge n'abantu be abeebagadde embalaasi. Abamisiri banaamanya nga Nze MUKAMA, bwe nnaamala okuwangula kabaka n'amagaali ge n'abantu be abeebagadde embalaasi.” Malayika wa Mukama eyakulemberamu eggye ly'Abayisirayeli, n'avaayo n'adda emabega waabwe. N'empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira emabega waabwe, n'ebeera wakati w'Abamisiri n'Abayisirayeli. Ekire ne kireetera Abamisiri ekizikiza, naye ne kiwa Abayisirayeli ekitangaala, ne batasembereragana ekiro kyonna. Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, Mukama n'asindika ku nnyanja omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba. Ne gukunta ekiro kyonna, ennyanja n'agifuula olukalu: amazzi ne geeyawulamu wabiri. Abayisirayeli ne bayita wakati mu nnyanja, amazzi ne gakola ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n'olwa kkono. Abamisiri ne babawondera mu nnyanja, nga bali n'embalaasi zonna eza kabaka w'e Misiri, n'amagaali ge, n'abantu be abeebagadde embalaasi. Obudde bwe bwali bunaatera okukya, Mukama n'atunuulira eggye ly'Abamisiri, n'alitabulatabula ng'asinziira mu mpagi ey'omuliro n'ekire. N'asibaganya nnamuziga z'amagaali gaabwe, ne bakaluubirirwa okugavuga. Abamisiri ne bagamba nti: “Tudduke Abayisirayeli, kubanga Mukama ye atulwanyisa ng'abalwanirira!” Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nnyanja amazzi gadde, geeyiwe ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku bantu baabwe abeebagadde embalaasi.” Awo Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, era ku makya, ennyanja n'edda mu mbeera yaayo eya bulijjo. Abamisiri ne bagezaako okugidduka, naye Mukama n'agibasuulamu wakati. Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali n'abeebagadde embalaasi, era n'eggye lya kabaka w'e Misiri lyonna, eryawondera Abayisirayeli mu nnyanja, ne watawonawo n'omu ku bo. Naye Abayisirayeli ne batambulira awakalu okuyita mu nnyanja, ng'amazzi gabakoledde ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n'olwa kkono. Bw'atyo Mukama, Abayisirayeli n'abawonya Abamisiri ku lunaku olwo. Abayisirayeli ne balaba Abamisiri ku lubalama lw'ennyanja nga bafudde. Abayisirayeli bwe baalaba obuyinza obw'amaanyi, Mukama bwe yawanguzisa Abamisiri, ne batya Mukama, era ne bamukkiriza, ne bakkiriza ne Musa omuweereza we. Awo Musa n'Abayisirayeli ne bayimbira Mukama oluyimba luno: “Ka nnyimbire Mukama, kubanga awangulidde ddala! Asudde mu nnyanja embalaasi n'abeebagazi baazo. Mukama ye w'amaanyi era ye andokola. Ye Katonda wa kitange, nnaayimbanga okumugulumiza. Mukama ye mulwanyi omuzira, erinnya lye ye MUKAMA. “Asudde mu nnyanja amagaali ga kabaka w'e Misiri n'eggye lye. Abakungu be abalondemu basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu! Ennyanja ey'eddubi ebasaanikidde, basse mu buziba ng'ejjinja. “Omukono gwo ogwa ddyo, ayi Mukama, gwa kitiibwa, gwa maanyi. Omukono gwo ogwa ddyo, ayi Mukama, gubetenta omulabe. Mu buwanguzi bwo obujjuvu omegga abalabe bo. Obusungu bwo bubuubuuka, ne bubookya ng'ebisasiro. Wafuuwa omukka gwo ku nnyanja, amazzi ne geetuuma entuumu, ne gayimirira ng'ekisenge. Ennyanja ey'eddubi ne yeekwata ng'ekitole. Omulabe yagamba nti: ‘Nja kubawondera mbakwate, nja kugabanyaamu ebyobugagga byabwe, nneetwalire byonna bye njagala. Nja kugolola ekitala kyange, ntwale ebyabwe byonna.’ Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira. Baasaanawo ng'ekyuma ekizito mu mazzi ag'amaanyi. “Mu balubaale ani ali nga ggwe, Mukama? Ani ali nga ggwe, oweekitiibwa, omuutukirivu, ow'entiisa era ow'ettendo, akola ebyewuunyisa? Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, ensi n'ebamira. “Mu kisa kyo, wakulembera abantu be wanunula, n'obatuusa mu kifo kyo ekitukuvu. Amawanga gaawulira ne gakankana. Ab'omu Filistiya bajjula okutya. Abakungu b'omu Edomu beewuunya, abakulembeze ab'e Mowaabu baakwatibwa ensisi. Abatuuze b'omu Kanaani baggwaamu amaanyi. Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko olw'obuyinza bwo obw'amaanyi. Bali ng'amayinja agateenyeenya, okutuusa abantu bo lwe bayitawo. Ne baleka abantu bayitewo, abantu be wanunula, ayi Mukama. Olibayingiza n'obateeka ku lusozi lwo, ekifo, ggwe ayi Mukama, kye walonda okubeerangamu: ekifo ekitukuvu kye weezimbira. Mukama alifuga emirembe n'emirembe.” Abayisirayeli baayita mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu. Naye amagaali ga kabaka w'e Misiri awamu n'embalaasi ze n'abazeebagala, olwayingira mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi, ne gababuutikira. Awo Miriyamu omulanzi, mwannyina wa Arooni, n'akwata ensaasi, abakazi bonna ne bamugoberera nga bakuba ensaasi era nga bazina. Miriyamu n'abayimbira oluyimba nti: “Muyimbire Mukama, kubanga awangulidde ddala. Asudde mu nnyanja embalaasi n'abeebagazi baazo.” Awo Musa n'akulembera Abayisirayeli okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne batuuka ku ddungu ly'e Suuri. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu, ne batazuula mazzi. Bwe baatuuka e Mara, ne batayinza kunywa mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Mara. Abantu ne beemulugunyiza Musa nga bagamba nti: “Tunaanywa ki?” Musa ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amulaga omuti, Musa n'agusuula mu mazzi ne gafuuka amalungi. Eyo Mukama gye yabaweera amateeka ge banaagobereranga, era eyo gye yabagereza. N'agamba nti: “Bwe muliwulira n'obwegendereza, nze Mukama Katonda wammwe bye mbagamba, ne mukola ebituufu mu maaso gange, ne mutuukiriza amateeka gange, era ne mukwata bye mbalagira byonna, siribalwaza ndwadde ze nalwaza Abamisiri, kubanga Nze Mukama abawonya mmwe.” Awo ne batuuka mu Elimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'emikindu ensanvu, ne basiisira awo awali amazzi. Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu Elimu, era ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri kasookedde bava mu nsi ey'e Misiri, ne batuuka mu ddungu ly'e Siini, eriri wakati wa Elimu ne Sinaayi. Eyo mu ddungu, Abayisirayeli bonna ne beemulugunyiza Musa ne Arooni, nga bagamba nti: “Waakiri Mukama yandituttidde mu nsi ey'e Misiri, gye twatuulanga awali entamu z'ennyama n'emmere, ne tulya ne tukkuta. Naye mwatuleeta mu ddungu lino, mulyoke mussise ekibiina kino kyonna enjala.” Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano ŋŋenda okubatonnyeseza emmere okuva mu ggulu. Abantu banaafulumanga buli lunaku okukuŋŋaanya emmere ebamala olunaku olwo. Mu ngeri eyo ndyoke mbageze, ndabe oba nga banaakuumanga amateeka gange. Ku lunaku olw'omukaaga banaakuŋŋaanyanga ne bayingiza ya mirundi ebiri ku eyo gye bakuŋŋaanya buli lunaku.” Awo Musa ne Arooni ne bagamba Abayisirayeli bonna nti: “Olwaleero olweggulo munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri. Era enkya munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Kale ffe baani, mulyoke mwemulugunyize ffe?” Awo Musa n'agamba nti: “Olweggulo Mukama ye anaabawa ennyama, ne mulya, n'enkya ye anaabawa emmere ne mukkuta, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Naye ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula mwemulugunyiza Mukama.” Musa n'agamba Arooni nti: “Gamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ” Arooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ne bakyuka ne batunula mu ddungu, amangwago ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire. Mukama n'agamba Musa nti: “Mpulidde okwemulugunya kw'Abayisirayeli. Bagambe nti: ‘Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munaalya emmere ne mukkuta. Olwo munaamanya nga Nze MUKAMA Katonda wammwe.’ ” Olweggulo entiitiri ne zijja, ne zibikka olusiisira. Ku makya, omusulo ne gugwa okwetooloola olusiisira lwonna. Omusulo bwe gwaggwaawo, akantu akatono akeekulungirivu ne kalabika ku ttaka mu ddungu. Kaali kagonvu ng'omusulo, naye nga kakwafu. Abayisirayeli bwe baakalaba, ne batakategeera. Ne beebuuzaganya nti: “Kiki kino?” Musa n'abagamba nti: “Eyo ye mmere, Mukama gy'abawadde okulya. Mukama alagidde nti buli omu ku mmwe akuŋŋaanyeeko gy'anaalya n'amalawo. Buli omu atwalire ab'omu weema ye, nga buli muntu amutwalira kilo bbiri.” Abayisirayeli ne bakola bwe batyo. Abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, abalala ntono. Bwe baagipimanga, eyabanga akuŋŋaanyizza ennyingi, nga temuyitirirako, n'eyabanga akuŋŋaanyizza entono, ng'afuna emumala. Musa n'abagamba nti: “Tewaba n'omu alekawo ya nkya.” Naye abamu ne batawulira Musa, ne balekawo ey'enkya. N'ezaala envunyu, n'ewunya. Musa n'abasunguwalira. Buli nkya buli muntu yakuŋŋaanyanga gy'anaalya n'amalawo. Omusana bwe gwayakanga, esigadde ku ttaka n'esaanuuka. Ku lunaku olw'omukaaga, baakuŋŋaanya ya mirundi ebiri, kilo nnya eza buli omu. Abakulembeze ne bajja, ne bategeeza Musa. Musa n'abagamba nti: “Ekyo Mukama kye yalagira, nti enkya lunaku lukulu, lwa kuwummulirako, Sabbaato, olunaku lwa Mukama olutukuvu. Mufumbe bye mwagala okufumba, mubugumye bye mwagala okubugumya. Emmere yonna esigalawo mugikuume, mugiterekere olwenkya.” Ne bagitereka okutuusa enkeera, nga Musa bwe yalagira, n'etewunya, era n'etebaamu nvunyu. Musa n'agamba nti: “Mulye eno olwaleero, kubanga olwaleero ye Sabbaato, olunaku lwa Mukama olutukuvu. Olwaleero temujja kusangayo mmere ebweru. Mukuŋŋaanye emmere mu nnaku mukaaga, naye ku lunaku olw'omusanvu, olwa Sabbaato emmere tebaayo.” Ku lunaku olw'omusanvu, abamu ne bagenda okukuŋŋaanya emmere, ne batagisangayo. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Mulituusa wa okugaana okuwulira amateeka gange n'ebiragiro byange? Mulabe, Nze MUKAMA, mbawadde Sabbaato, kyenva mbawa ku lunaku olw'omukaaga, emmere eneebamazaako ennaku ebbiri. Buli muntu asigale w'ali, tavanga waka we ku lunaku olw'omusanvu.” Abayisirayeli ne batuuma emmere eyo erinnya Mannu. Yali efaanana ng'akasigo akatono akeeru, era ng'ewoomerera ng'obugaati obukoleddwa mu mubisi gw'enjuki. Musa n'agamba nti: “Mukama alagidde nti: ‘Mulekewo ku mannu, eterekebwe olwa bazzukulu bammwe, balyoke balabenga emmere gye nabawa mmwe okulyanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi ey'e Misiri.’ ” Musa n'agamba Arooni nti: “Twala ekibya, oteekemu kilo bbiri eza mannu, okiteeke mu maaso ga Mukama, kiterekebwe olwa bazzukulu baffe.” Arooni n'akiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, kiterekebwe, nga Mukama bwe yalagira Musa. Abayisirayeli ne baliira mannu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ya Kanaani ebeerekamu abantu. Ekipimo ekyakozesebwanga, nga kyenkana kilo bbiri. Abayisirayeli bonna ne bava mu ddungu ly'e Siini, ne batambula nga bagenda basula, nga Mukama bwe yabalagiranga. Ne basiisira mu Refidiimu, naye tewaaliyo mazzi ga kunywa. Abantu ne bayombesa Musa, ne bagamba nti: “Tuwe amazzi tunywe!” Musa n'abaddamu nti: “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugeza Mukama?” Abantu ne balumibwa nnyo ennyonta y'amazzi, ne beemulugunyiza Musa, ne bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri okutussa ennyonta, ffe n'abaana baffe n'ensolo zaffe?” Musa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Abantu bano mbakolere ki? Banaatera okunkuba amayinja!” Mukama n'agamba Musa nti: “Kwata omuggo gwe wakubya Omugga Kiyira, ogende n'abamu ku bakulembeze b'Abayisirayeli, okulemberemu abantu. Nze nja kuyimirira mu maaso go eyo ku lwazi, ku Lusozi Horebu, ggwe okube olwazi, muveemu amazzi, abantu banywe.” Musa n'akola bw'atyo mu maaso g'abakulembeze b'Abayisirayeli. N'atuuma ekifo ekyo erinnya Massa ne Meriba, kubanga Abayisirayeli baayomba ne bageza Mukama nga bagamba nti: “Mukama ali wamu naffe?” Awo Abameleki ne bajja ne balwana n'Abayisirayeli mu Refidiimu. Musa n'agamba Yoswa nti: “Tulonderemu abasajja, ogende olwane n'Abameleki. Enkya nja kuyimirira ku ntikko y'olusozi, nga nkutte mu ngalo omuggo, Katonda gwe yaŋŋamba okukwatanga.” Yoswa n'akola nga Musa bwe yamulagira, n'agenda n'alwana n'Abameleki. Musa ne Arooni ne Kuri ne balinnya ku ntikko y'olusozi. Musa bwe yayimusanga emikono gye, Abayisirayeli ne bawangula. Bwe yassanga wansi emikono gye, Abameleki ne bawangula. Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa. Arooni ne Kuri ne bamuleetera ejjinja n'alituulako. Bo ne bamuyimirira erudda n'erudda, ne bawanirira emikono gye okuginywereza waggulu okutuusa enjuba okugwa. Yoswa bw'atyo n'awangula Ameleki n'abantu be, ng'akozesa ekitala. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Wandiika ekyo mu kitabo, kiryoke kijjukirwenga, era buulira Yoswa nti ndisaanyizaawo ddala Abameleki ku nsi.” Musa n'azimba alutaari, n'agituuma erinnya “Mukama ye bbendera yange.” N'agamba nti: “Muwanirire ebbendera ya Mukama! Mukama anaalwananga n'Abameleki ennaku zonna.” Yetero kabona w'e Midiyaani, kitaawe wa muka Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n'Abayisirayeli, abantu be, bwe yabaggya mu Misiri. Awo Yetero n'ajja eri Musa ng'aleese Zippora muka Musa, Musa gwe yali agobye, n'abaana be ababiri. Erinnya ly'omwana omu ye Gerusoomu, kubanga Musa yagamba nti: “Mbadde mugwira mu nsi eteri yange.” N'erinnya ery'omwana omulala ye Eliyezeeri, kubanga Musa yagamba nti: “Katonda wa kitange yannyamba, n'amponya okuttibwa kabaka w'e Misiri.” Yetero n'ajja ne muka Musa ne batabani ba Musa bombi, okulaba Musa mu ddungu, Musa gye yali asiisidde ku lusozi olutukuvu. N'atumira Musa nti: “Nze Yetero, kitaawe wa mukazi wo, ne batabani bo bombi.” Musa n'avaayo okumusisinkana, n'akutamya ku mutwe okumussaamu ekitiibwa, n'amunywegera, ne babuuzagana nti: “Otya nno?” Ne bayingira mu weema. Musa n'anyumiza Yetero byonna Mukama bye yakola kabaka w'e Misiri n'abantu be, okununula Abayisirayeli. Era n'amunyumiza ebizibu byonna, ebyabatuukako nga bali mu kkubo, era nga Mukama bwe yabawonya. Yetero n'asanyuka okuwulira ebirungi byonna Mukama bye yakolera Abayisirayeli, bwe yabawonya okufugibwa Abamisiri. N'agamba nti: “Mukama atenderezebwe, eyabawonya kabaka n'abantu b'e Misiri! Kaakano ntegedde nga Mukama ye mukulu okusinga balubaale bonna, kubanga yawonya abantu okufugibwa Abamisiri abaabeekulumbalizaako.” Yetero, kitaawe wa muka Musa, n'aleeta ekirabo ekiweebwayo eky'okwokya nga kiramba, n'ebitambiro ebirala eby'okuwaayo eri Katonda. Arooni n'abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli ne bajja okulya ekijjulo awamu ne kitaawe wa muka Musa, mu maaso ga Katonda. Ku lunaku olwaddirira, Musa n'atuula okulamula abantu. Abantu ne babeera awo nga bamwetoolodde, okuva ku makya okutuusa olweggulo. Yetero bwe yalaba byonna Musa by'akolera abantu, n'abuuza nti: “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki okola obw'omu wekka, abantu ne babeera awo nga bakwetoolodde okuva ku makya okutuusa olweggulo?” Musa n'addamu nti: “Kubanga abantu bajja gye ndi okumanya Katonda by'ayagala. Bwe baba n'obutategeeragana, bajja gye ndi ne mbasalirawo ensonga zaabwe, era mbategeeza amateeka ga Katonda n'ebiragiro bye.” Awo Yetero n'amugamba nti: “Tewandikoze bw'otyo. Ojja kwekooya nnyo ggwe n'abantu bano, abali awamu naawe. Omulimu guno muzibu nnyo, toyinza kugukola bwomu wekka. Kaakano wuliriza, nze ka nkuwe amagezi, Katonda alyoke abeere naawe. Ggwe beera mubaka wa bantu eri Katonda, era otuuse ensonga zaabwe gy'ali. Obayigirize amateeka n'ebiragiro, era obagunjule mu mpisa ze basaanidde okuyisa, ne mu mirimu gye basaanidde okukola. Era mu bantu bonna, londamu abasajja ab'amagezi, abassaamu Katonda ekitiibwa ab'amazima era abakyawa enguzi, obateekewo okukulira abantu. Wabeewo abakulira enkumi, n'abakulira ebikumi, n'abakulira amakumi ataano ataano, n'abakulira ekkumi kkumi, balamulenga abantu ebiseera byonna. Ensonga ennene ze baba bakuleeteranga, naye ensonga entono bazimalenga bo bennyini. Bwe batyo banaakwetikkirako omugugu, ne kikwanguyiza ku mulimu. Bw'onookola ekyo, era nga Katonda ky'akulagidde, teweemalengamu ndasi, era abantu bano bonna banaddangayo mu maka gaabwe nga balina emirembe.” Awo Musa n'akkiriza amagezi, Yetero ge yamuwa, n'akola byonna bye yamugamba. N'alonda mu Bayisirayeli bonna abasajja ab'amagezi, n'abateekawo okukulira enkumi, n'okukulira ebikumi, n'okukulira amakumi ataano ataano, n'okukulira ekkumi kkumi. Ne balamulanga abantu ebiseera byonna. Ensonga enzibu ne bazireeteranga Musa, naye ensonga entono, ne bazeemaliranga bokka. Awo Musa n'asiibula Yetero, Yetero n'addayo mu nsi y'ewaabwe. Musa n'ayambuka ku lusozi eri Katonda. Mukama n'ayita Musa ng'asinziira ku lusozi, n'agamba nti: “Abayisirayeli bazzukulu ba Yakobo bagambe nti: ‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, era nga bwe nabasitula mmwe ng'empungu bw'esitula abaana baayo ku biwawaatiro byayo, ne mbaleeta we ndi. Kale kaakano, bwe munaawuliranga bye mbagamba, ne mutuukiriza endagaano yange, munaabanga bantu bange be nsinga okwagala mu bantu bonna, kubanga ensi yonna yange. Munaabanga ggwanga lyange ettukuvu, era munampeerezanga mu bwakabona.’ Ebigambo ebyo by'oba otegeeza Abayisirayeli.” Awo Musa n'agenda n'ayita abakulembeze b'abantu, n'abategeeza ebyo byonna, Mukama bye yamulagira. Abantu bonna ne baddiramu wamu nti: “Byonna Mukama by'agambye tunaabikolanga.” Musa n'azzaayo eri Mukama ebyo abantu bye bagambye. Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kujja gy'oli mu kire ekikwafu, abantu bawulire bwe njogera naawe, balyoke bakukkirizenga bulijjo.” Musa n'abuulira Mukama ebyo abantu bye bagambye. Mukama n'amugamba nti: “Genda eri abantu, obagambe beetukuze olwaleero n'olwenkya, era booze ebyambalo byabwe. Babe nga beeteeseteese ku lunaku oluddirira olwenkya, kubanga ku lunaku olwo olwokusatu, nja kukka ku Lusozi Sinaayi mu maaso g'abantu bonna. Bateerewo ensalo okwetooloola olusozi olwo, obagambe nti: ‘Mwekuume, muleme kwambuka ku lusozi, wadde okusemberera ensalo zaalwo. Buli anaasemberera olusozi olwo, ajja kuttibwa. K'abe muntu oba nsolo, ajja kuttibwa ng'akubibwa amayinja, oba ng'alasibwa obusaale, awatali kumukwatako.’ Wabula eŋŋombe bw'eneevuga, abantu ne balyoka basemberera olusozi.” Awo Musa n'akka ng'ava ku lusozi, n'ategeeza abantu beetukuze. Ne booza ebyambalo byabwe. Musa n'abagamba nti: “Mweteekereteekere olunaku oluddirira olwenkya. Temusemberera mukazi.” Bwe bwakya enkya ku lunaku olwokusatu, ne wabaawo okubwatuka kw'eggulu n'okumyansa. Ekire ekikwafu ne kirabika ku lusozi, era eŋŋombe ey'eddoboozi ekkangufu ennyo n'ewulirwa. Abantu bonna abaali mu lusiisira, ne bakankana. Musa n'aggya abantu mu lusiisira, n'abakulembera okusisinkana Katonda, ne bayimirira wansi w'olusozi. Olusozi Sinaayi lwonna ne lukankana nnyo. Eddoboozi ly'eŋŋombe ne lyeyongera nnyo okuvuga. Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu mu kubwatuka kw'eggulu. Mukama n'akka ku ntikko y'Olusozi Sinaayi, n'ayita Musa okwambuka ku ntikko y'olusozi. Musa n'ayambuka. Mukama n'amugamba nti: “Serengeta olabule abantu baleme okubuuka ensalo okujja okundaba, sikulwa nga bangi mu bo bafa. Era ne bakabona abansemberera beetukuze, nneme okubabonereza.” Musa n'agamba Mukama nti: “Abantu tebajja kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga watukuutira nti: ‘Mumanye nti olusozi lutukuvu, era muteekeeko ensalo okulwetooloola.’ ” Mukama n'amugamba nti: “Serengeta, okomewo wamu ne Arooni. Naye bakabona n'abantu tebabuuka ensalo okujja gye ndi, nneme okubabonereza.” Musa n'akka eri abantu n'abategeeza. Katonda n'ayogera, era byonna bye yayogera bye bino: “Nze MUKAMA Katonda wo eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, gye wafugirwanga obuddu. “Tobanga na Katonda mulala okuggyako nze. “Teweekoleranga kifaananyi kya kintu na kimu eky'omu ggulu, oba eky'oku nsi, oba eky'omu mazzi agali wansi w'ettaka. Toovuunamirenga bifaananyi ebyo, era toobisinzenga, kubanga Nze Mukama Katonda wo, sivuganyizibwa. Mbonereza abaana n'abazzukulu bannakasatwe ne bannakana, olw'ebibi bya bajjajjaabwe abankyawa. Naye nsaasira abantu enkumi n'enkumi abanjagala era abakuuma ebiragiro byange. “Tomalanga gakozesa linnya lyange, kubanga Nze Mukama, Katonda wo, ndibonereza buli muntu amala gakozesa erinnya lyange. “Ojjukiranga okukuuma olunaku lwa Sabbaato nga lutukuvu. Olina ennaku mukaaga okukolerangamu emirimu gyo gyonna. Naye olunaku olw'omusanvu ye Sabbaato, luweereddwayo nga lwange, Nze Mukama, Katonda wo. Ku lunaku olwo, tokolerangako mulimu na gumu, ggwe n'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'abaddu bo n'abazaana bo, n'ebisolo byo, wadde abagwira abali omumwo. Kubanga mu nnaku omukaaga, Nze Mukama mwe nakolera eggulu n'ensi n'ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, ne mpummulira ku lunaku olw'omusanvu. Nze Mukama kyennava mpa omukisa olunaku olwo olwa Sabbaato, ne ndutukuza. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Nze Mukama Katonda gye nkuwa. “Tottanga. “Toyendanga. “Tobbanga. “Towaayirizanga muntu munno. “Teweegombanga nnyumba ya muntu mulala, teweegombanga mukazi we, newaakubadde omuddu we, oba omuzaana we, oba ente ye, oba endogoyi ye, wadde ekintu kye ekirala.” Abantu bonna bwe baawulira okubwatuka kw'eggulu n'eddoboozi ery'eŋŋombe, era bwe baalaba okumyansa, n'olusozi nga lunyooka omukka, ne bakankana, ne bayimirira wala. Ne bagamba Musa nti: “Ggwe oba oyogera naffe, tujja kuwulira. Naye Katonda bw'anaayogera naffe, tujja kufa.” Musa n'agamba abantu nti: “Muleme kutya, kubanga Katonda azze kubageza bugeza, mulyoke mumuwulirenga, mulemenga kwonoona.” Naye abantu ne basigala nga bayimiridde wala. Musa n'asemberera ekire ekikwafu, Katonda kye yalimu. Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Mulabye bwe nsinzidde mu ggulu ne njogera nammwe. Temwekoleranga balubaale aba ffeeza oba aba zaabu okubageraageranya ku nze. Munkolere alutaari ey'ettaka, era ku yo mutambirireko endiga zammwe n'ente zammwe ez'okwokya nga nnamba, era n'ezo eziriirwa awamu olw'okutabagana. Mu buli kifo kye ndibalondera okunsinzizangamu, ndijja gye muli, ne mbawa omukisa. Bwe munkoleranga alutaari ey'amayinja, temugizimbisanga mayinja gatemeddwa, kubanga ebyuma bye mukozesa okugatema, bigafuula agatasaanira. Temulinnyanga madaala okutuuka ku alutaari yange, sikulwa nga mwebikkulirako mu ngeri etesaana.’ “Gano ge mateeka g'onoowa Abayisirayeli. Bw'ogula omuddu Omwebureeyi, anaakuweerezanga okumala emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw'omusanvu anaaweebwanga eddembe lye n'agenda, nga tewali ky'asasudde. Bw'aba nga we yafuukira omuddu wo teyalina mukazi, bw'abanga agenda, tagendanga na mukazi. Bw'aba nga yalina omukazi, mukazi we agendanga wamu naye. Mukama we bw'aba nga ye yamuwa omukazi, n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba ab'obuwala, omukazi n'abaana be baliba ba mukama we, era omusajja anaagendanga bwomu. Naye omuddu bw'ayatulanga mu lwatu nti: ‘Njagala mukama wange, ne mukazi wange, n'abaana bange, saagala kulekebwa kugenda mbe wa ddembe,’ olwo mukama we amutwalanga we basinziza, n'amuyimiriza ku luggi oba ku mufuubeeto, n'amuwummula okutu n'olukato, n'amusigaza nga muddu we ennaku zonna. “Omuntu bw'atundanga muwala we abe omuzaana, omuzaana oyo taalekebwenga kugenda abe wa ddembe ng'abaddu bwe balekebwa. Kyokka mukama we eyamugula ng'agenderera okumuwasa, bw'ataasiimenga muzaana oyo, anaamulekanga n'anunulibwa kitaawe, era taabenga na buyinza kumuguza bagwira, kubanga aba amuyisizza bubi nnyo. Omuntu bw'agula omuzaana okumuwa mutabani we, anaamuyisanga nga muwala we. Omusajja bw'awasanga omukazi owookubiri, emmere n'engoye n'ebikwata ku bufumbo by'awa mukazi we omubereberye, taabikendeezengako. Bw'ataamuwenga ebyo byonsatule, anaalekanga omukazi oyo okugenda abe wa ddembe, awatali kusabayo bintu. “Buli anaakubanga omuntu n'amutta, naye anattibwanga. Kyokka anattanga omuntu nga tagenderedde, ndikuteerawo ekifo gy'ayinza okuddukira n'atakolebwako kabi. Naye omuntu bw'attanga muntu munne mu lukwe ng'agenderedde, ne bw'abanga addukidde ku alutaari yange okuwona, aggyibwangayo n'attibwa. “Buli anaakubanga kitaawe oba nnyina, anattibwanga. “Buli anaabuzangawo omuntu n'amutunda, oba n'asangibwa naye, anattibwanga. “Buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina, anattibwanga. “Abantu bwe banalwanagananga, omu n'akuba munne ejjinja oba ekikonde, akubiddwa n'atafa, naye n'alwazibwa ku kitanda, bw'asitukanga n'asenvulira ku muggo, eyamukuba taabonerezebwenga, wabula anaamugattanga olw'ebiseera, bye yamufiiriza, n'amujjanjaba okutuusa lw'awonera ddala. “Omuntu bw'anaakwatanga omuggo, n'akuba omuddu we, oba omuzaana we, omukube n'afiirawo, omuntu oyo akubye anaabonerezebwanga. Naye omuddu bw'anaamalangawo olunaku olumu oba ebbiri nga tannafa, mukama we taabonerezebwenga, kubanga gw'afiiriddwa muddu we, yamugula. “Abantu bwe banaalwanagananga, ne balumya omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, naye omukazi n'atatuukibwako kabi kalala, amulumizza anaaliyisibwanga byonna bba w'omukazi by'anaamusaliranga, ne bikakasibwa abalamuzi. Naye omukazi oyo bw'anaatuukibwangako akabi, olwo ekibonerezo kinaabeeranga kya kuliwa bulamu ku bulamu, liiso ku liiso, linnyo ku linnyo, mukono ku mukono, kigere ku kigere, kwokebwa ku kwokebwa, kiwundu ku kiwundu, kinuubule ku kinuubule. “Omuntu bw'akubanga omuddu we, oba omuzaana we mu liiso ne lifa, amulekanga n'agenda nga wa ddembe olw'okuliyirira eriiso lye. Omuntu bw'anaakubanga omuddu we, oba omuzaana we n'amuggyamu erinnyo, anaamulekanga n'agenda nga wa ddembe olw'okuliyirira erinnyo lye. “Ente bw'eneetomeranga omusajja oba omukazi n'emutta, eneekubibwanga amayinja n'ettibwa, era ennyama yaayo teeriibwenga, kyokka nnannyiniyo taavunaanibwenga musango. Naye ente bw'eba nga yamanyiira okutomeranga abantu, nnannyiniyo n'alabulwa, kyokka n'atagisiba, olwo bw'eneetomeranga omusajja oba omukazi n'emutta, ente eneekubibwanga amayinja n'ettibwa, era ne nnannyiniyo anattibwanga. Naye nnannyiniyo bwe banaamusaliranga omutango okununula obulamu bwe, anaawangayo byonna bye bamusalidde. “Bw'eneetomeranga omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala n'emutta, nnannyiniyo anaavunaanibwanga mu ngeri ye emu. Ente bw'eneetomeranga omuddu, oba omuzaana n'emutta, nnannyini nte anaasasulanga nnannyini muddu oba muzaana, ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, era ente eneekubibwanga amayinja n'ettibwa. “Omuntu bw'anaabikkulanga obunnya, oba bw'anaasimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'ebugwamu, anaaliwanga olw'ensolo eyo, ng'awaayo ensimbi eri nnannyiniyo, ensolo efudde n'eba yiye. “Ente y'omuntu bw'eneetomeranga ey'omulala n'egitta, abo bombi banaatundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana ensimbi ezivuddemu, era n'ente efudde banaagigabananga. Naye bwe kinaamanyikanga ng'ente yamanyiira okutomeranga, nnannyiniyo n'atagisiba, anaaliwanga ng'awaayo ente ennamu, kyokka eyo efudde n'eba yiye. “Omuntu bw'anabbanga ente oba endiga n'agitta, oba n'agitunda, ente emu anaagisasulangamu ente ttaano, n'endiga emu anaagisasulangamu endiga nnya. “Omuntu bw'anaalekanga ensolo ze okuliira mu lusuku oba mu nnimiro y'emizabbibu, ne zigenda ne zirya ebirime mu nnimiro y'omuntu omulala, anaasasuliranga ebirime ebyo ng'aggya mu by'omu lusuku olulwe, ne ku by'omu nnimiro eyiye ey'emizabbibu. “Omuntu bw'anaakoleezanga omuliro ne gulanda, ne gukwata ennimiro y'omuntu omulala, ne gwokya eŋŋaano ekyakula oba ne gwokya ennimiro yonna, oyo eyakoleezezza omuliro ogwo anaaliwanga. “Omuntu bw'anakkirizanga okuterekera munne ensimbi oba ebintu, ne babibbira mu nnyumba ye, omubbi bw'anaazuulibwanga, anaaliwanga emirundi ebiri. Omubbi bw'anaabanga tazuuliddwa, nnannyini nnyumba anaaleetebwanga mu Ssinzizo n'alayira nga teyabba bintu bya munne. “Buli nkaayana ku bintu, oba ku nte, oba ku ndogoyi, oba ku ndiga, oba ku ngoye, oba ku kintu ekirala kyonna ekibuze, bombiriri abakikaayanira banaaleetebwanga mu Ssinzizo. Oyo Katonda gw'anaasaliranga omusango okumusinga, anaaliyiriranga munne emirundi ebiri. “Omuntu bw'anakkirizanga okukuumira munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala, ensolo eyo n'efa oba n'etuukibwako akabi, oba n'enyagibwa nga tewali akiwaako bujulizi, anaagendanga n'alayirira mu Ssinzizo nga teyabba nsolo ya munne. Nnannyiniyo anakkirizanga, era munne taaliwenga. Naye bw'eba nga yamubbibwako, aliyiranga nnannyiniyo. Bw'enettibwanga ensolo enkambwe, anaaleetanga ebitundu ebisigaddewo okukakasa. Taaliwenga olw'eyo ettiddwa ensolo enkambwe. “Omuntu bw'aneeyazikanga ensolo ku muntu omulala, ensolo eyo n'etuukibwako akabi, oba n'efa, nga nnannyiniyo taliiwo, anaamuliyiranga. Naye nnannyiniyo bw'anaabeerangawo, eyagyeyazika taaliwenga. Bw'eba nga yali mpangise, eba esasuliddwa omuwendo ogwagipangisa. “Omusajja bw'anaasendasendanga omuwala embeerera atannayogerezebwa, n'amwonoona, anaawangayo ebintu eby'obuko, omuwala oyo alyoke abe mukazi we. Naye kitaawe w'omuwala bw'anaagaananga okumumuwa, omusajja anaaliwanga ebintu ebyenkanankana n'ebyo ebiweebwayo okwogereza omuwala embeerera. “Onottanga omukazi omulogo. “Omuntu aneebakanga ku nsolo anattibwanga. “Buli muntu anaawangayo ekitambiro eri balubaale, n'atakiwa nze nzekka Mukama, anaazikirizibwanga. “Omugwira tomuyisanga bubi, wadde okumulumya, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi ey'e Misiri. Temuubonyaabonyenga nnamwandu n'omu, wadde mulekwa. Bwe munaababonyaabonyanga, ne bansaba okubayamba, siiremenga kubayamba. Era mmwe nnaabasunguwaliranga nnyo, ne mbattira mu lutalo, ne bakazi bammwe ne bafuuka bannamwandu, n'abaana bammwe ne baba bamulekwa. “Bw'onoowolanga ensimbi omu ku bantu bange abaavu, tomubanjanga ng'omuwozi w'ensimbi bw'abanja, n'omusaba amagoba. Munno bw'anaakusingiranga ekyambalo kye, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa, kubanga kye kyokwebikka kyokka ky'alina ekimubugumya. Kiki ekirala ky'aneebikka? Bw'anansabanga okumuyamba, nnaamuyambanga, kubanga ndi musaasizi. “Toyogeranga bubi ku Katonda, era tokolimiranga mukulembeze w'abantu bo. “Tolwangawo kuntonera birabo ku bibala by'obazizza, ne ku mwenge gwo ogw'emizabbibu. “Omuggulanda mu baana bo omumpanga. Onookolanga kye kimu ne ku nte zo, ne ku ndiga zo. Ennume nnyina waayo gy'esookerako okuzaala, eneemalanga ennaku musanvu ne nnyina waayo, ku lunaku olw'omunaana n'ogimpa. “Munaabanga bantu bange abatukuvu. N'olwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo ettiddwa ensolo enkambwe. Munaagisuuliranga mbwa. “Toosaasaanyenga bigambo bya bulimba, era tooyambenga muntu mubi, ng'owa obujulizi obw'obulimba. Toogobererenga abasinga obungi, bwe bakola ekibi, oba bwe bawa obujulizi obukyamya ensala ey'amazima. Teweekubirenga ku ludda lwa mwavu asinge omusango. “Bw'osanganga ente, oba endogoyi y'omulabe wo ng'ebuze, ogizzangayo gy'ali. Bw'olabanga endogoyi y'omuntu akukyaye ng'egudde olw'obuzito bwe yeetisse, muyambe ogikwatireko eyimirire, toyitangawo buyisi. “Toogaanenga kusalira mwavu mazima mu musango gwe. Weewalanga okwogera eby'obulimba. Atalina kabi na musango tomuttanga, kubanga buli akola ekibi, sirirema kumusalira musango kumusinga. Tokkirizanga kuweebwa nguzi, kubanga enguzi eziba abantu amaaso, ne batalaba kituufu, era ekyamya ebigambo by'abatalina musango. Toyisanga bubi mugwira. Mumanyi omugwira nga bw'awulira, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi ey'e Misiri. “Okumala emyaka mukaaga, osiganga ennimiro yo, n'okungulanga by'ebazizza. Naye mu mwaka ogw'omusanvu, ogiwummuzanga n'otogirima, abaavu mu mmwe balyoke balyenga ebikulamu. Bye baleseewo, ensolo ez'omu ttale zinaabiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga n'ennimiro yo ey'emizabbibu, n'ey'emizayiti. “Mu nnaku mukaaga, okolanga emirimu gyo, naye ku lunaku olw'omusanvu, owummulanga, abaddu bo n'abagwira abakukolera balyoke bawummule, era n'ente zo n'endogoyi zo nazo ziwummule. “Mukuumenga byonna bye mbagambye. Temuusinzenga balubaale wadde okukoowoolanga amannya gaabwe. “Munaakuzanga embaga ssatu buli mwaka, okunzisaamu ekitiibwa. Munaakuzanga Embaga ey'Emigaati egitazimbulukusiddwa. Okumala ennaku musanvu munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe nabalagira mu kiseera ekyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu, kubanga omwezi ogwo gwe mwaviiramu mu Misiri. Tewabanga n'omu ajja ngalo nsa okunsinza. “Munaakuzanga Embaga ey'Amakungula, nga mutandika okukungula ebibala byammwe bye mwasiga mu nnimiro, era munaakuzanga Embaga ey'Ensiisira, ku nkomerero y'omwaka, bwe munaakungulanga ebibala mu nnimiro zammwe. Buli mwaka ku mbaga ezo essatu, abasajja bonna mu mmwe, banajjanga okunsinza Nze Mukama Katonda. Omusaayi gw'ensolo gye muntambiridde, temuugumpeerenga wamu n'emigaati egizimbulukusiddwa. Era n'amasavu g'ensolo ezitambiddwa ku mbaga yange, tegaasigalengawo okutuusa enkeera. Ebibala ebisooka okukungulwa mu nnimiro zammwe, mubireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe. “Temuufumbirenga mbuzi nto mu mata ga nnyina waayo. “Nja kutuma malayika okubakulemberamu, abakuume mu kkubo, abatuuse mu kifo kye nateekateeka. Mumusseemu ekitiibwa, era mumuwulire. Temumujeemera, kubanga nze mmutumye, era tajja kusonyiwa bujeemu bwammwe. Naye bwe munaawuliranga ne mukolanga byonna bye ndagira, nnaalwanyisanga abalabe bammwe bonna. Malayika wange alibakulemberamu, n'abayingiza mu nsi y'Abaamori, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abakanaani, n'Abahiivi era n'Abayebusi, era abo ndibazikiriza. Temuuvuunamirenga balubaale baabwe, wadde okubasinzanga, era temuukoppenga mpisa za bantu abo, naye muzikirizanga balubaale baabwe, ne mumenyaamenya n'empagi zaabwe. Bwe munaasinzanga Nze Mukama Katonda wammwe, ndibawa omukisa, ne mufuna emmere n'amazzi, era ndibaggyako obulwadde bwammwe bwonna. Mu nsi yammwe tewaliba mukazi avaamu lubuto, oba aliba omugumba, era ndibawangaaza mmwe. “Nditiisa abantu ababeekiika mu maaso, nditabulatabula abantu bonna be mulwanyisa, era ndireetera abalabe bammwe bonna okukyuka babadduke mmwe. Ndisindika ennumba okubakulemberamu, ezirigoba Abahiivi, n'Abakanaani, n'Abahiiti nga mutuuka. Siribagoba mu mwaka gumu, ensi ereme okuzika, n'ensolo ez'omu ttale zireme okubayitirirako mmwe obungi. Naye abantu abo ndibagoba mpolampola, okutuusa mmwe lwe mulyeyongera obungi, ensi eyo yonna n'eba yammwe. Nditeekawo ensalo z'ensi yammwe, okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafilistiya, n'okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Ewufuraate. Ndibawa obuyinza ku batuuze b'omu nsi eyo, era mulibagobamu nga mutuuka. Temukolanga ndagaano nabo, wadde ne balubaale baabwe. Temulekanga bantu abo kubeeranga mu nsi yammwe, baleme kukola kibi mu maaso gange, kubanga bwe mulisinza balubaale baabwe, tekirirema kubasuula mmwe mu mutego.” Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi gye ndi, ggwe ne Arooni ne Nadabu ne Abihu, n'abakulembeze ensanvu aba Yisirayeli, era musinze nga mukyali walako. Ggwe wekka, ggwe onoosembera we ndi, naye abalala, tebasembera. Abantu baleme kwambuka ku lusozi wamu naawe.” Musa n'ajja, n'ategeeza abantu byonna Mukama by'agambye ne by'alagidde. Abantu bonna ne baddiramu wamu nga bagamba nti: “Ebyo byonna Mukama by'ayogedde tujja kubikola.” Musa n'awandiika byonna Mukama by'ayogedde. N'agolokoka enkya mu makya, n'azimba alutaari wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, olw'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli. N'atuma abavubuka Abayisirayeli, ne bawaayo eri Mukama ebitambiro, era ne batambira ente eziriirwa awamu olw'okutabagana. Musa n'addira ekitundu ekimu eky'omusaayi, n'akiteeka mu bibya, ekitundu ekirala n'akimansira ku alutaari. N'akwata ekitabo eky'endagaano, n'akisoma ng'abantu bawulira. Abantu ne bagamba nti: “Byonna Mukama by'ayogedde tujja kubikola era tunaabanga bawulize.” Awo Musa n'addira omusaayi oguli mu bibya, n'agumansira ku bantu, n'agamba nti: “Guno gwe musaayi ogukakasa endagaano Mukama gy'akoze nammwe mu bigambo byonna by'ayogedde.” Awo Musa ne Arooni, ne Nadabu, ne Abihu, n'abakulembeze ensanvu aba Yisirayeli ne bambuka ku lusozi, ne balaba Katonda wa Yisirayeli. Wansi w'ebigere bye ne waba ng'omwaliiro ogw'amayinja aga safiro, nga ga bbululu omutangaavu ng'eggulu. Katonda n'atakola kabi ku bakulembeze abo aba Yisirayeli. Baalaba Katonda, ne balya era ne banywa. Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi gye ndi, era ng'oli eno, nja kukuwa ebipande eby'amayinja, okuli amateeka n'ebiragiro, bye mpandiise olw'okuyigiriza abantu.” Awo Musa n'asituka ne Yoswa omuweereza we. Bwe yali ng'anaatera okwambuka ku lusozi olutukuvu, n'agamba abakulembeze nti: “Mutulindire wano, okutuusa lwe tunaakomawo gye muli. Arooni ne Kuri bali wamu nammwe. Buli alina enkaayana, agende gye bali.” Musa n'ayambuka ku lusozi, ekire ne kimubikka, ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikka okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw'omusanvu, Mukama n'ayita Musa ng'asinziira mu kire wakati. Ekitiibwa kya Mukama ne kifaananira Abayisirayeli ng'omuliro ogwakira ku ntikko y'olusozi. Musa n'ayita mu kire, n'ayambuka ku ntikko y'olusozi, n'amalayo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro. Mukama n'agamba Musa nti: “Tegeeza Abayisirayeli, bantonere ebirabo. Buli muntu mulimuggyako ekirabo ky'ayagala okuntonera. Bino bye birabo bye mulibaggyako: zaabu ne ffeeza n'ekikomo, n'olugoye olulungi olweru, n'olwa bbululu, n'olwa kakobe, n'olumyufu, n'olukoleddwa mu byoya by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'embuzi, n'omuti ogwa akasiya, n'amafuta ag'ettaala, n'ebyakawoowo ebitabulwa mu muzigo ogwesiigibwa, ne mu bubaane obw'okunyookeza, n'amayinja ag'omuwendo, agayitibwa onika, n'amayinja amalala ag'omuwendo, ag'okuwunda ku kkanzu, ne ku kyambalo eky'omu kifuba, ebya Ssaabakabona. Era abantu bankolere Ekifo Ekitukuvu, ndyoke mbeerenga wakati mu bo. Mulikola ne byonna ebikirimu, nga mugoberera enkola gye nnaakulaga. “Mulikola essanduuko ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. Munda ne kungulu, muligibikkako zaabu omulungi, era muligikolako omuge ogwa zaabu okugyetoolooza. Muligikolera empeta nnya eza zaabu, ne muzisiba ku magulu gaayo ana, ng'ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu, n'endala ebbiri, ku ludda lwayo olulala. Era mulikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, ne mugibikkako zaabu. Muligiyingiza mu mpeta, ku buli ludda olw'essanduuko, esitulirwenga ku gyo. Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko, tegiggyibwengamu. Muliteeka ku ssanduuko ebipande eby'amayinja, bye ndikuwa, okuwandiikiddwa ebiragiro. “Muliddira zaabu omulungi, ne mukolamu entebe ey'obusaasizi, ya sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi. Mulikola bakerubi babiri aba zaabu omuweese, ne mubateeka ku nsonda ebbiri ez'entebe ey'obusaasizi, omu ku nsonda emu, n'omulala ku nsonda endala, ne bafuukira ddala kitundu kya ntebe ey'obusaasizi, ku nsonda zaayo zombi. Bakerubi balitunuuliragana, era nga batunuulidde entebe ey'obusaasizi, n'ebiwaawaatiro byabwe ebyanjuluze, birigibikka. Ebipande eby'amayinja bye ndikuwa, olibiteeka mu ssanduuko, n'ogiteekako entebe ey'obusaasizi. Ekyo kye kifo we nnaasisinkaniranga naawe, era nnaasinziiranga ku ntebe ey'obusaasizi, eri wakati wa bakerubi bombi, ku Ssanduuko ey'Endagaano, ne nkutegeeza byonna bye nnaalagiranga Abayisirayeli. “Mulikola emmeeza ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kinaana mu munaana obuwanvu, sentimita ana mu nnya obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. Muligibikkako zaabu omulungi, era muligikolako omuge ogwa zaabu okugyetoolooza. Muligikolako olukugiro lwa milimita nsanvu mu ttaano okugyetoolooza. Ku lukugiro olwo mulikolako omuge okulwetoolooza. Muligikolera empeta nnya eza zaabu, ne muziteeka ku nsonda zaayo ennya awali amagulu gaayo. Empeta ezo ez'okuteekamu emisituliro gy'emmeeza, ziriteekebwa kumpi n'olukugiro. Mulikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, ne mugibikkako zaabu, emmeeza esitulirwenga ku gyo. Era mulikola essowaani n'ensaniya ez'okuteekako obubaane, ensuwa n'ebikopo eby'okukozesa ku biweebwayo ebinywebwa. Mulibikola mu zaabu omulungi. Munaateekanga ku mmeeza emigaati emitukuvu gibeerenga mu maaso gange bulijjo. “Mulikola ekikondo ky'ettaala ekya zaabu omulungi. Ekikolo kyakyo n'enduli yaakyo, biriba bya zaabu omuweese. Ebikopo byakyo n'ebituttwa byakyo n'ebimuli byakyo biriba bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo. Kiriba n'amatabi mukaaga ku njuyi zaakyo: amatabi asatu ku buli ludda. Buli limu ku matabi omukaaga, liribeerako ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya alumondi okuli ekituttwa n'ekimuli. Ku nduli y'ekikondo ky'ettaala kulibeerako ebikopo bina ebifaanana ng'ebimuli. Wansi wa buli matabi abiri ku matabi omukaaga agava ku nduli y'ekikondo, wabeewo ekituttwa kimu, nga kya zaabu ye omu n'ow'ekikondo. Ebituttwa byakyo n'amatabi gaakyo biribeera bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo, nga kyonna awamu kikoleddwa mu zaabu omulungi omuweese. Era mulikola ettaala musanvu ez'okuteeka ku kikondo, era banaazikoleezanga ne zimulisa ebbanga eriri mu maaso gaakyo. Makansi zaakyo n'ensaniya zaakyo, biribeera bya zaabu omulungi. Ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo byonna birikolebwa mu kilo amakumi asatu mu ttaano eza zaabu omulungi. Weegendereze obikole mu ngeri ekulagiddwa ku lusozi. “Mulikola Eweema Entukuvu mu mitanda kkumi egikoleddwa mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, emitanda egyo ne mugitungako bakerubi. Gyonna muligikola nga gyenkanankana, nga buli gumu gwa mita kkumi na bbiri obuwanvu, ne mita bbiri obugazi. Emitanda etaano girigattibwa gyokka, n'emirala etaano girigattibwa gyokka. Mulikola eŋŋango ez'olugoye olwa bbululu ku lukugiro lwa buli mutanda ogw'oku mabbali w'emitanda emigatte. Mulikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali ku buli mitanda emigatte, eŋŋango ez'oludda olumu nga zitunuuliraganye n'ez'oludda olulala. Era mulikola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okugatta awamu emitanda gyombi, Eweema Entukuvu ebeere ngatte wamu. “Mulikola eweema ya mitanda kkumi na gumu egy'olugoye olukoleddwa mu byoya by'embuzi, ebikke ku Weema Entukuvu. Buli mutanda guliba gwa mita kkumi na ssatu obuwanvu, ne mita bbiri obugazi. Emitanda etaano muligigatta wamu gyokka, n'emitanda omukaaga nagyo ne mugigatta gyokka. Omutanda ogw'omukaaga muligufunyamu wabiri mu bwenyi bwa Weema Entukuvu. “Mulikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali ku buli mitanda emigatte. Mulikola ebikwaso amakumi ataano eby'ekikomo, mubiteeke ku ŋŋango, mugatte Eweema Entukuvu ebeere emu. Ekitundu ekimu ekyokubiri eky'omutanda ekisigaddewo, kirireebeeta ne kibikka emabega wa Weema Entukuvu. Sentimita amakumi ataano ezifisseewo mu buwanvu ku buli ludda, zirireebeeta mu mbiriizi za Weema Entukuvu okugibikka. “Weema Entukuvu era muligikolera eby'okugibikkako bibiri, ekimu nga kya maliba ga ndiga eza sseddume amannyike amamyufu, n'ekirala ekyokungulu nga kya maliba ga mbuzi. “Mulikola embaawo z'Eweema Entukuvu ez'obusimba, ez'omuti ogwa akasiya. Buli lubaawo luliba lwa mita nnya obuwanvu, ne sentimita nkaaga obugazi, nga luliko ennimi bbiri kwe ziyinza okugattirwa. Embaawo zonna ez'Eweema Entukuvu, bwe mutyo bwe mulizikola. Mulikola embaawo amakumi abiri ez'oludda olw'ebukiikaddyo, era n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza wansi waazo: ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo omw'okuteeka ennimi zaalwo ebbiri. Mulikola embaawo amakumi abiri ez'oludda olw'ebukiikakkono obw'Eweema Entukuvu, n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo. Ez'oku ludda olw'Eweema Entukuvu olw'emabega mu bugwanjuba, mulikola embaawo mukaaga, n'embaawo bbiri ez'omu nsonda. Ezo zombi zirigattibwa okuva wansi okutuukira ddala waggulu, ne bazisiba n'empeta emu. Bwe mutyo bwe mulikola embaawo zombi ez'omu nsonda ebbiri. Walibaawo embaawo munaana n'ebinnya byazo kkumi na mukaaga ebya ffeeza, bibiri wansi wa buli lubaawo. “Mulikola emikiikiro kkumi n'etaano egy'omuti ogwa akasiya: etaano ku mbaawo ez'oludda olumu olw'Eweema Entukuvu, etaano ku mbaawo ez'oku ludda olw'emabega olw'ebugwanjuba. Omukiikiro ogwa wakati w'embaawo guliyitamu erudda n'erudda. Embaawo mulizibikkako zaabu, era muliziteekako empeta eza zaabu ez'okusiba emikiikiro, era nagyo muligibikkako zaabu. Mulizimba Weema Entukuvu mu ngeri eyakulagibwa ku lusozi. “Mulikola olutimbe olw'olugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'emmyufu, era nga lutungiddwako bakerubi. Mulirukwasa n'amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ez'omuti ogwa akasiya, ezibikkiddwako zaabu, era ensimbe mu binnya bina ebya ffeeza. Muliwanika olutimbe ku malobo ne luleebeeta, ne muteeka emabega waalwo Essanduuko ey'Endagaano. Olutimbe olwo lulibaawuliramu Ekifo Ekitukuvu, n'Ekifo Ekitukuvu ennyo. Muliteeka entebe ey'obusaasizi ku Ssanduuko ey'Endagaano, mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Emmeeza muligiteeka ku ludda olulala olw'olutimbe, n'ekikondo ky'ettaala mulikiteeka mu maaso g'emmeeza, ku ludda lw'Eweema Entukuvu olw'ebukiikaddyo, ng'emmeeza eri mu bukiikakkono. “Omulyango oguyingira mu Weema muligukolera olutimbe olw'olugoye olulungi olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era olutungiddwako omudalizo. Olutimbe olwo mulirukolera empagi ttaano ez'omuti ogwa akasiya, ne muzibikkako zaabu. Amalobo gaazo galibeera ga zaabu, era mulizikolera ebinnya bitaano eby'ekikomo. “Mulikola alutaari ey'omuti ogwa akasiya, eyenkanankana ku njuyi zonna: mita bbiri n'ebitundu bibiri obuwanvu, ne mita bbiri n'ebitundu bibiri obugazi, ate mita emu n'ebitundu bisatu obugulumivu. Mulikola amayembe gaayo ku nsonda zaayo ennya, nga ga muti gwe gumu n'ogwayo, era mulibikkako ekikomo. Era mulikola eby'okukozesa ku alutaari eby'okuyoolerangamu evvu: mulikola n'ebijiiko, n'ebibya ne wuuma n'ensaniya. Ebintu byayo byonna mulibikola nga bya kikomo. Muligikolera ekitindiro ekiruke eky'ekikomo, ne mugisibako empeta nnya ku nsonda zaakyo ennya. Mulikiteeka wansi w'omugo gwa alutaari, ne kibeera wakati w'obugulumivu bwayo. Mulikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, ne mugibikkako ekikomo, ne mugiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'alutaari, okugisitulirangako. Alutaari eyo muligikola nga ya mbaawo, era ng'erina ebbanga munda. Erikolebwa mu ngeri eyakulagibwa ku lusozi. “Mulikola oluggya lw'Eweema Entukuvu, ne mulwetoolooza entimbe ez'olugoye olulukiddwa obulungi. Ku ludda olw'ebukiikaddyo, entimbe ziriba za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa amalobo n'obuuma ebya ffeeza, ku bikondo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo. Entimbe bwe zityo bwe ziriba ne ku ludda olw'ebukiikakkono, nga za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa mu binnya byazo amakumi abiri eby'ekikomo. Ku ludda olw'ebugwanjuba, walibaayo entimbe za mita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, n'ebikondo kkumi, n'ebinnya kkumi. Ku ludda olw'ebuvanjuba, oluliko omulyango, oluggya luliba lwa mita amakumi abiri mu bbiri obugazi. Omulyango gwennyini gulibeeramu olutimbe lwa mita mwenda obuwanvu, olulukiddwa mu lugoye olulungi, mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, nga kutungiddwako omudalizo. Luliwanirirwa ebikondo bina ebisimbiddwa mu binnya bina. Ebikondo byonna okwetooloola oluggya, birigattibwa n'emiziziko egya ffeeza, era amalobo gaabyo galikolebwa nga ga ffeeza, n'ebinnya byabyo nga bya kikomo. Oluggya luliba lwa mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri obugazi ne mita bbiri n'ebitundu bibiri obugulumivu. Entimbe zirikolebwa mu lugoye olulungi, ebinnya biriba bya kikomo. Ebintu byonna eby'okukozesa mu Weema Entukuvu, n'enkondo zaayo zonna, n'enkondo zonna ez'oluggya, biriba bya kikomo. “Oliragira Abayisirayeli bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzayiti, ag'okuteeka mu ttaala, esobole okwakanga bulijjo. Arooni ne batabani be baliteeka ettaala mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, ebeerenga ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, eyakirenga awo mu maaso gange, okuva olweggulo okutuusa enkya. Etteeka eryo linaakuumibwanga ennaku zonna Abayisirayeli ne bazzukulu baabwe. “Mu Bayisirayeli bonna, yitayo muganda wo Arooni ne batabani be, Nadabu ne Abihu, ne Eleyazaari, ne Yitamaari, basembere w'oli, bampeereze mu bwakabona. Olikolera muganda wo Arooni ebyambalo eby'obwakabona, ebimuweesa ekitiibwa, era ebimulabisa obulungi. Oligamba bonna abasobola okukola, era be najjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo bya Arooni, ayawulibwe, ampeereze mu bwakabona. Bino bye byambalo bye balikola: eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'essaati eriko omudalizo, n'ekiremba eky'oku mutwe, n'olukoba. Balikolera muganda wo Arooni ne batabani be ebyambalo ebyo ebitukuvu, bye banaayambalanga nga bampeereza mu bwakabona. Abakozi balikozesa ewuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era ne zaabu, n'olugoye olulukiddwa obulungi. “Balikola ekkanzu mu zaabu ne mu lugoye olulukiddwa obulungi n'amagezi, mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu. Ku bibegabega byayo eritungibwako obuwuzi bubiri obugatta enjuyi zaayo: olw'omu maaso n'olw'emabega. Olukoba olulukiddwa obulungi n'amagezi mu lugoye lwe lumu nga yo, lulitungibwa ddala ku yo. Oliddira amayinja abiri aga onika, n'oyolako amannya ga batabani ba Yisirayeli, amannya mukaaga ku jjinja erimu, n'amalala mukaaga ku jjinja eddala, nga bwe baddiŋŋanwako mu kuzaalibwa. Olifuna omusazi w'amayinja omukugu, n'oyola ku mayinja abiri amannya ga batabani ba Yisirayeli. Amayinja ago n'ogasiba mu mbu za fuleemu eza zaabu, era oligateeka ku buwuzi obw'oku bibegabega eby'ekkanzu okujjuukirirangako abaana ba Yisirayeli. Mu ngeri eyo, ndyoke nzijukirenga abantu bange. Era olikola embu za fuleemu eza zaabu, n'emikuufu ebiri egya zaabu omulungi, nga girangiddwa ng'emiguwa, ogisibe ku mbu za fuleemu. “Olikola ekyambalo eky'omu kifuba, Ssaabakabona ky'anaayambalanga ng'alangirira ebyo Katonda by'ayagala. Olikikola mu nkola ye emu ey'amagezi nga gy'olikolamu ekkanzu mu lugoye olulukiddwa obulungi mu wuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era n'eza zaabu. Kiryenkanankana ku njuyi zaakyo zonna, nga kifunyiddwamu wabiri: sentimita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, ne sentimita amakumi abiri mu bbiri obugazi. Olikiteekamu ennyiriri nnya ez'amayinja ag'omuwendo, olunyiriri olusooka luliba lwa sarudiyo ne topaazi ne karubunkulo. Olunyiriri olwokubiri luliba lwa emeraludo ne safiro ne dayamondi. Olunyiriri olwokusatu luliba lwa yakinto ne agate ne ametisto, n'olunyiriri olwokuna luliba lwa berulo ne onika ne yasipero. Galiteekebwa mu mbu za fuleemu eza zaabu. Buli limu ku mayinja ago ekkumi n'abiri, liriyolwako erinnya limu limu ku mannya ga batabani ba Yisirayeli, okujjukiranga ebika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri. Olikola emikuufu egya zaabu omulungi, egy'oku kyambalo eky'omu kifuba, nga girangiddwa ng'emiguwa. Olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi eza waggulu ez'ekyambalo eky'omu kifuba. Emikuufu ebiri egya zaabu oligiteeka mu mpeta ebbiri ez'oku nsonda ezo ebbiri ez'ekyambalo eky'omu kifuba, n'enkomerero ez'emikuufu ebiri egirangiddwa, olizisiba ku mbu ebbiri eza fuleemu, bw'otyo ekyambalo eky'omu kifuba n'okigatta ku buwuzi obw'ekibegabega eky'ekkanzu, ku ludda lwayo olw'omu maaso. Olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi eza wansi, ez'ekyambalo eky'omu kifuba, ku ludda lwakyo olwomunda, okuliraana ekkanzu. Olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku buwuzi bubiri obw'oku bibegabega by'ekkanzu, wansinsi, ku ludda lwayo olw'omu maaso, kumpi ne w'egattirwa, waggulu w'olukoba lw'ekkanzu olulukiddwa obulungi n'amagezi. Baliddira akawuzi aka kakobe, ne basiba empeta z'ekyambalo eky'omu kifuba ku mpeta z'ekkanzu, ekyambalo eky'omu kifuba kibeere ku lukoba lw'ekkanzu olulukiddwa obulungi n'amagezi, era kireme kusumululwanga ku yo. “Kale Arooni anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, ng'ayambadde ekyambalo eky'omu kifuba ekyo, ekyoleddwako amannya g'ebika bya Yisirayeli, Nze Mukama ndyoke nzijukirenga abantu bange. Oliteeka Wurimu ne Tummimu mu kyambalo eky'omu kifuba, Arooni alyoke abisitulenga ng'ajja mu maaso gange. Mu biseera ng'ebyo, anaayambalanga ekyambalo eky'omu kifuba, alangirirenga eri Abayisirayeli, Nze Mukama bye njagala. “Era olikola omunagiro ogw'oku kkanzu, nga gwonna gwa bbululu. Gulibeera n'ekituli, omutwe mwe guyita. Ekituli ekyo, kirinywezebwa n'omukugiro ogulukiddwa okukyetooloola, kireme okuyuzibwa. “Okwetooloola ebirenge byagwo, oliteekako amakomamawanga aga bbululu n'aga kakobe n'amamyufu, ng'ogatobekamu endege eza zaabu: endege ya zaabu n'ekkomamawanga, n'endege ya zaabu n'ekkomamawanga. Arooni anaagwambalanga bw'anaabanga aweereza mu bwakabona. Bw'anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu mu maaso gange, oba bw'anaafulumanga, eddoboozi ly'endege linaawulirwanga, aleme okufa. “Olikola akapande aka zaabu omulungi, n'oyolako ebigambo nti ‘AWEEREDDWAYO ERI MUKAMA.’ Olikasiba ku kawuzi aka kakobe, n'okateeka ku ludda olw'omu maaso olw'ekiremba eky'oku mutwe. Arooni anaakateekanga mu kyenyi kye bulijjo, nze Mukama ndyoke nzijukirenga ebirabo byonna Abayisirayeli bye bawaayo gye ndi, abantu ne bwe babaako ensobi ze bakola mu kubiwaayo. “Olirukira Arooni essaati mu lugoye olulungi, era olikola mu lugoye olulungi ekitambaala eky'oku mutwe n'omusipi ogutungiddwako omudalizo. “Olikolera batabani ba Arooni amasaati n'enkoba, era n'enkuufiira, okubaweesa ekitiibwa n'okubalabisa obulungi. Olyambaza Arooni muganda wo ne batabani be ebyambalo ebyo. Olibasiiga omuzigo, n'obaawula n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona. Olibakolera empale ennyimpi nga za lugoye, ze banaayambalanga, eziva mu kiwato okutuuka mu bisambi. Arooni ne batabani be banaabanga bazambadde, bwe banaayingiranga mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga alutaari okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme kuzza musango ogw'okubaleetera okufa. Arooni n'ezzadde lye banaakuumanga etteeka lino ennaku zonna. “Bino by'olikola ku Arooni ne ku batabani be okubatukuza, bampeerezenga mu bwakabona: olireeta ente emu ennume ento, n'endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo. N'oddira obuwunga obw'eŋŋaano obulungi, n'okolamu emigaati egitazimbulukusiddwa, n'obugaati obutazimbulukusiddwa obutabuddwamu omuzigo, n'emigaati egy'oluwewere egitazimbulukusiddwa, egisiigiddwako omuzigo. Oligiteeka mu kibbo kimu n'ogireetera mu kyo, era n'oleeta n'ente ennume n'endiga ebbiri. “Olireeta Arooni ne batabani be ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu, okole omukolo ogw'okubanaaza n'amazzi. Olyambaza Arooni ebyambalo: essaati, ekkanzu, omunagiro ogubikka ku kkanzu, n'ekyambalo eky'omu kifuba, n'omusiba ku kkanzu olukoba olulukiddwa n'amagezi. Era oliteeka ekiremba ku mutwe gwe, n'oteeka engule entukuvu ku kiremba. Oliddira omuzigo ogusiigibwa, n'ogufuka ku mutwe gwe, n'omusiiga. Era oliddira batabani be n'obambaza amasaati, n'obasiba enkoba mu biwato, era n'obatikkira enkuufiira ku mitwe. Bw'otyo bw'olyawula Arooni ne batabani be. Bo n'ezzadde lyabwe banampeerezanga mu bwakabona ennaku zonna. “Olireeta ente ennume mu maaso g'Eweema ey'okunsisinkanirangamu, Arooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. Oligittira mu maaso gange Nze Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu. Olitwala ku musaayi gw'ente n'oguteeka ku mayembe g'alutaari, ng'okozesa olunwe lwo, n'oyiwa omusaayi gwonna ku ntobo y'alutaari. Olwo oliddira amasavu gonna agabikka ebyenda, n'ekisenge ekiri ku kibumba, n'ensigo zombi n'amasavu agaziriko, n'obyokera ku alutaari. Naye ennyama y'ente eyo ennume, n'eddiba lyayo, n'obusa bwayo, olibyokera wabweru w'olusiisira. Ekyo kye kiweebwayo olw'ebibi. “Era oliddira endiga emu, Arooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo, n'ogitta, n'oddira omusaayi gwayo n'ogumansira ku njuyi zonna ez'alutaari. Oligitemaatemamu ebitundu, n'onaaza ebyenda byayo n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'omutwe gwayo, n'ebitundu byayo ebirala. N'oyokera ku kyoto ekitukuvu endiga yonna ennamba. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ku lwange Nze Mukama, era nsiima evvumbe lyakyo eddungi. “Oliddira endiga eyookubiri, Arooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo, n'olyoka ogitta, n'oddira ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda ey'okutu okwa ddyo okwa Arooni ne ku nsonda ez'amatu aga ddyo aga batabani be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku byalabisajja eby'oku bigere byabwe. Omusaayi ogusigaddewo oligumansira ku njuyi zonna ez'alutaari. Olitoola ku musaayi oguli ku alutaari, n'otwala ne ku muzigo ogusiigibwa, n'obimansira ku Arooni n'ebyambalo bye, ne ku batabani be n'ebyambalo byabwe. Ye ne batabani be balitukuzibwa, era ebyambalo bye n'ebyabwe nabyo biritukuzibwa. “Oliggyako amasavu g'endiga, n'ekitundu ky'omukira gwayo ekisava, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo. Ne ku migaati egitazimbulukusiddwa, egiri mu kisero, egiteekeddwa mu maaso gange, Nze Mukama, olitoolako omugaati gumu, n'akagaati kamu akasiigiddwako omuzigo, n'omugaati ogw'oluwewere gumu. Byonna olibikwasa Arooni ne batabani be, babiweeyo gye ndi nga babiwuuba mu maaso gange. Olwo olibibaggyako, n'obyokera ku alutaari, awamu n'ebirabo ebiweebwayo ne byokebwa nga biramba, bibeere evvumbe eddungi lye nsiima Nze Mukama. “Oliddira ekifuba ky'endiga ey'omukolo ogw'okwawula Arooni, n'okiwaayo gye ndi, ng'okiwuuba mu maaso gange, era ekyo kiriba mugabo gwo. Mu kwawula kabona, ekifuba n'ekisambi eby'endiga ey'omukolo ogwo ogw'okwawula, binaaweebwangayo gye ndi nga biwuubibwa, era nga bisitulibwa, ne biba bya Arooni ne batabani be. Abayisirayeli bwe banaawangayo ebitambiro byabwe eby'okuliira awamu olw'okutabagana, ekifuba n'ekisambi eby'ensolo, binaabeeranga bya bakabona ab'olulyo lwa Arooni ennaku zonna. Kino kye kirabo Abayisirayeli kye banampanga Nze Mukama. “Ebyambalo ebitukuvu ebya Arooni, biriba bya batabani be abalimuddirira, okusiigirwangamu omuzigo n'okwawulirwangamu. Mutabani we alimusikira mu bwakabona, anaayambalanga ebyambalo ebyo okumala ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, okuweereza mu Kifo Ekitukuvu. “Oliddira ennyama y'endiga ey'omukolo ogw'okwawula Arooni ne batabani be, n'ogifumbira mu Kifo Ekitukuvu, Arooni ne batabani be, ennyama eyo n'emigaati egiri mu kibbo, balibiriira ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu. Balirya ebyo ebiweereddwayo olw'okusonyiyisa ebibi nga baawulibwa, era nga batukuzibwa. Bakabona bokka be balibiryako, kubanga bitukuvu. Ku nnyama eyo, oba ku migaati egyo, bwe walibaawo ebisigaddewo okutuusa enkya, olibyokya mu muliro. Tebiririibwa, kubanga bitukuvu. “Ebyo by'olikola ku Arooni ne ku batabani be, nga bwe nkulagidde. Omukolo ogw'okubaawula, oligukolera ennaku musanvu. Buli lunaku onoowangayo ente ennume n'etambirwa olw'okusonyiyisa ebibi. Ekitambiro ekyo kirirongoosa alutaari. Olwo alutaari oligisiigako omuzigo okugitukuza. Olikola ekyo buli lunaku, okutukuza alutaari, okumala ennaku musanvu, olwo alutaari eribeera ntukuvu nnyo. Buli ekinaagikoonangako kinaabeeranga kitukuvu. “Kale by'onootambiranga ku alutaari buli lunaku obutayosa, bye bino: endiga ento bbiri, ezaakamala omwaka gumu. Emu onoogitambiranga ku makya, endala n'ogitambira akawungeezi. Awamu n'endiga ento emu esooka, onoowangayo kilo emu ey'obuwunga obw'eŋŋaano obulungi, obutabuddwamu lita emu ey'omuzigo gw'emizayiti omulungi. Ekiweebwayo ekinywebwa, onoowangayo lita emu ey'omwenge ogw'emizabbibu. Endiga ento endala onoogitambiranga akawungeezi, n'owaayo awamu nayo, obuwunga obw'eŋŋaano, n'ekinywebwa eky'omwenge ogw'emizabbibu nga ku makya, bibeere evvumbe eddungi lye nsiima Nze Mukama. Mu mirembe gyonna egijja, ekitambiro kino ekyokebwa, kinaaweebwangayo mu maaso gange, ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu. Awo we nnaabasisinkaniranga okwogera nammwe. Awo we nnaasisinkaniranga Abayisirayeli, era ekitiibwa kyange kinaatukuzanga Eweema. Nditukuza Eweema ey'okunsisinkanirangamu, era nditukuza alutaari. Era nditukuza Arooni ne batabani be, okumpeerezanga mu bwakabona. Nnaabeeranga mu Bayisirayeli, era nnaabanga Katonda waabwe. Balimanya nga Nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi ey'e Misiri, ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe. “Olikola alutaari ey'okwoterezangako obubaane. Oligikola nga ya muti ogwa akasiya. Eryenkanankana enjuyi zonna: sentimita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne sentimita amakumi ana mu ttaano obugazi, ate sentimita kyenda obugulumivu. Amayembe gaayo galiba ga muti gwe gumu ng'ogwayo. Olibikka zaabu omulungi kungulu waayo, ne ku njuyi zaayo ennya, ne ku mayembe gaayo, era oligikolako engule eya zaabu okugyetoolooza. Olikolako empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka wansi w'engule, ku njuyi zaayo ebbiri, okusiba emisituliro egy'okugisitulirako. Olikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'ogibikkako zaabu. Oliteeka alutaari eyo, mu maaso g'olutimbe oluli okumpi n'Essanduuko ey'Endagaano, mu maaso g'entebe ey'obusaasizi, kwe nnaasisinkaniranga naawe. Arooni bw'ajjanga buli nkya okulongoosa ettaala, anaayoterezanga ku alutaari eyo obubaane obw'akawoowo. Era anaabwoterezanga, bw'anaakoleezanga ettaala akawungeezi. Obubaane bunaanyookeranga mu maaso gange, nze Mukama, obutasalako mu mirembe gyammwe gyonna egijja. “Ku alutaari eyo, temwoterezengako bubaane obutakkirizibwa, oba okuweerako ekiweebwayo ekyokebwa, wadde ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era temuugiyiwengako kiweebwayo ekinywebwa. Omulundi gumu buli mwaka, Arooni anaakolanga omukolo ogw'okutukuza alutaari, ng'ateeka ku mayembe gaayo omusaayi gw'ensolo ettibwa olw'okusonyiyisa ebibi. Kino kinaakolebwanga buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna egijja. Alutaari eyo entukuvu ennyo, yange Nze Mukama.” Mukama n'agamba Musa nti: “Bw'onoobalanga abantu ba Yisirayeli okumanya bwe benkana obungi, buli muntu abalibwa anaasasulanga Nze Mukama ensimbi, okununula obulamu bwe, balyoke baleme kuttibwa kawumpuli nga babalibwa. Buli muntu anaamalanga okubalibwa, anaawanga ekitundu kimu kyakubiri ekya sekeli, omuwendo ogwagerekebwa okusasulwanga mu Kifo Ekitukuvu. Anantoneranga ensimbi ezo ng'ekirabo. Buli muntu awezezza emyaka amakumi abiri oba okusingawo, anaamalanga okubalibwa, anampanga omuwendo gw'ensimbi ogwo. Omugagga taasasulenga zisingawo bungi, n'omwavu taasasulenga zitawera kitundu kimu kyakubiri ekya sekeli, nga bawaayo ensimbi ezo olw'okubasonyiyisa. Olikuŋŋaanya ensimbi ezo, Abayisirayeli ze bawaddeyo olw'okubasonyiyisa, n'ozikozesa emirimu egy'omu Weema ey'okunsisinkanirangamu. Ensimbi ezo, zinaasasulwanga olw'okubasonyiyisa, era zinaabanga ekijjukizo mu maaso gange, Nze Mukama.” Mukama n'agamba Musa nti: “Olikola ebbenseni ey'ekikomo, ebe n'ekikondo eky'ekikomo, ogiteeke wakati wa alutaari n'Eweema ey'okunsisinkanirangamu, era ogiteekemu amazzi. Arooni ne batabani be, be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe. Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, oba nga bagenda okusemberera alutaari, kwe bampeerereza ekiweebwayo ekyokebwa, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Banaanaabanga engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kye kiragiro, bo ne bazzukulu baabwe kye banaakuumanga ennaku zonna.” Mukama era n'agamba Musa nti: “Ddira ebyakawoowo ebisinga obulungi: kilo mukaaga eza mirra ow'amazzi ne kilo ssatu eza kinnamooni awunya obulungi, ne kilo ssatu eza kaani, ne kilo mukaaga eza kassiya, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu, ne lita nnya ez'omuzigo ogw'emizayiti, obikolemu omuzigo omutukuvu ogw'okusiiganga, ogutabuddwa ng'ebyakawoowo. Oligusiiga ku Weema ey'okunsisinkanirangamu ne ku Ssanduuko ey'Endagaano, ne ku mmeeza, ne ku bintu byayo byonna, ne ku kikondo ky'ettaala, ne ku bintu byakyo, ne ku kyoterezo ky'obubaane, ne ku alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, ne ku bintu byayo byonna, ne ku bbenseni, ne ku kikondo kyayo. Ebintu ebyo olibitukuza bibe ebitukuvu ennyo, buli ekinaabikoonangako, kinaabeeranga kitukuvu. Era olifuka omuzigo ku Arooni ne batabani be n'obatukuza, okumpeerezanga mu bwakabona. Oligamba Abayisirayeli nti: ‘Omuzigo guno omutukuvu, gunaabeeranga gwa kufuka ku byange mu mirembe gyammwe gyonna egijja. Teguufukibwenga ku bantu ba bulijjo, era temuukolenga gugufaanana, nga mugutabula mu ngeri ye emu. Gwo mutukuvu, era gunaabeeranga mutukuvu gye muli. Buli alitabula ogugufaanana, oba buli aligukozesa ku muntu atasaanidde, aliba takyabalirwa mu bantu bange.’ ” Mukama n'agamba Musa nti: “Ddira ebyakawoowo akalungi sitakite ne onika, ne galibanumu, awamu n'obubaane obulungi, byonna nga byenkana obuzito, obikolemu ekyokwoteza nga kitabuddwa ng'ebikolebwa omutabuzi w'obuwoowo. Kitabulemu omunnyo, okukikuuma nga kirongoofu era kitukuvu. Olikitoolako ekitundu n'okisekulasekula nnyo, n'okiteeka mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano. Ekyokwoteza ekyo, kinaabeeranga kitukuvu nnyo gye ndi. Ekyokwoteza ekyo ky'olikola, temukyekoleranga mmwe, nga mukitabula mu ngeri ye emu. Kinaabeeranga kitukuvu gye ndi, ekyawuliddwa Nze Mukama. Buli anaakolanga ekikifaanana, okukikozesa ng'ekyakawoowo, aliba takyabalirwa mu bantu bange.” Mukama n'agamba Musa nti: “Nnonze Bezaleeli, mutabani wa Wuuri, era muzzukulu wa Huri ow'omu Kika kya Yuda. Era mmujjuzizza mwoyo wange. Mmuwadde amagezi n'okutegeera, n'okumanya okukola emirimu egya buli ngeri: okutetenkanya eby'okukola mu zaabu, ne mu ffeeza, ne mu kikomo; okusala amayinja ag'omuwendo ag'okuwanga, okwola emiti, n'okukola emirimu egya buli ngeri. Era nnonze Aholiyaabu, mutabani wa Ahisamaki ow'omu Kika kya Daani, okukola awamu naye. Era abakozi bonna mbawadde amagezi, balyoke basobole okukola byonna bye mbalagidde: Eweema ey'okunsisinkanirangamu, Essanduuko ey'Endagaano, entebe ey'obusaasizi egiriko, n'ebintu byonna eby'omu Weema, emmeeza n'ebintu byayo, ekikondo ky'ettaala ekya zaabu omulungi, n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoterezo ky'obubaane; alutaari ey'okwokerako ebiweebwayo, era n'ebintu byayo byonna, ebbenseni n'ekikondo kyayo, ebyambalo ebikoleddwa obulungi, era ebitukuvu ebya Arooni ne batabani be, bye bambala nga baweereza mu bwakabona; omuzigo ogusiigibwa, n'obubaane obuwunya akawoowo, eby'omu Kifo Ekitukuvu. Ebintu ebyo byonna, balibikola nga bwe nkulagidde.” Mukama n'agamba Musa okutegeeza Abayisirayeli nti: “Mukuumanga Sabbaato, olunaku olw'okuwummula, kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna egijja, okubalaga mmwe nti Nze Mukama abatukuza. Mukuumanga Sabbaato, kubanga lunaku lwammwe lutukuvu. Buli ataalukuumenga, n'amala alukolerako emirimu, alittibwa. Ennaku mukaaga ze zinaakolerwangako emirimu. Naye olunaku olw'omusanvu, lunaku lukulu, lwa kuwummula, lwawuliddwa Nze Mukama. Buli akola emirimu ku Sabbaato, alittibwa. Abayisirayeli kyebanaavanga bakuuma Sabbaato, nga ke kabonero ak'endagaano ey'olubeerera. Ke kabonero wakati wange n'Abayisirayeli ennaku zonna, kubanga Nze Mukama, nakola eggulu n'ensi mu nnaku mukaaga, ku lunaku olw'omusanvu ne ndekera awo okukola, ne mpummula.” Katonda bwe yamala okwogera ne Musa ku Lusozi Sinaayi, n'amuwa ebipande ebibiri eby'amayinja, Katonda yennyini bye yawandiikako ebiragiro. Awo abantu bwe baalaba nga Musa aluddewo okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Arooni, ne bamugamba nti: “Tetumanyi kyatuuka ku Musa, eyatuggya mu nsi y'e Misiri. Kale tukolere balubaale abanaatukulemberangamu.” Arooni n'abagamba nti: “Muggyeeko empeta eza zaabu eziri ku matu ga bakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.” Awo abantu bonna ne baggyako empeta zaabwe eza zaabu ezaali ku matu gaabwe, ne bazireetera Arooni. N'azibaggyako, n'azisaanuusa, zaabu n'amuyiwa mu lutiba, n'akolamu ennyana. Abantu ne bagamba nti: “Yisirayeli, bano be balubaale abaakuggya mu nsi y'e Misiri.” Arooni bwe yalaba ennyana eyo, n'azimba alutaari mu maaso gaayo, n'alangirira nti: “Enkya wanaabeerawo embaga okussaamu Mukama ekitiibwa.” Enkeera ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebitambiro eby'okwokya, n'ebirala ebiriirwa awamu olw'okutabagana. Abantu ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka okuzina. Mukama n'agamba Musa nti: “Serengeta oddeyo, kubanga abantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri, boonoonye. Bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu. Beekoledde ennyana mu zaabu, ne bagiwa ebitambiro, ne bagamba nti: ‘Yisirayeli, bano be balubaale abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ” Mukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano mbalabye nga ba mitima mikakanyavu. Kale kaakano ndeka, mbamalireko obusungu bwange, era mbazikirize. Naye ggwe, ndikufuula eggwanga eddene.” Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'agamba nti: “Mukama lwaki omalira obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri, ng'okozesa amaanyi amangi era n'obuyinza? Lwaki okuleka Abamisiri okugamba nti: ‘Yabaggya mu Misiri, ng'agenderedde okubattira mu nsozi, n'okubasaanyizaawo ddala ku nsi?’ Leka obusungu bwo obukambwe. Weerowooze, oleme kutuusa kabi ako ku bantu bo. Jjukira abaweereza bo Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, ggwe wennyini be weerayirira n'ogamba nti: ‘Ndibawa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, n'ensi eno yonna gye mbasuubizza mmwe, ndigiwa bazzukulu bammwe, ebe yaabwe emirembe gyonna!’ ” Mukama ne yeerowooza, n'atatuusa ku bantu be kabi, ke yali agambye okubatuusaako. Musa n'avaayo, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'akutte mu ngalo ze, ebipande by'amayinja ebibiri, ebiwandiikiddwako ebiragiro ku njuyi zaabyo zombi. Katonda yennyini ye yakola ebipande ebyo eby'amayinja, era ye yawandiika ebiragiro ng'abyolako. Yoswa bwe yawulira abantu nga baleekaana, n'agamba Musa nti: “Mpulira abantu mu lusiisira, nga baleekaana ng'abalwana.” Musa n'agamba nti: “Eryo si ddoboozi ly'abaleekaana olw'obuwanguzi oba ery'abakaaba olw'okuwangulwa naye ddoboozi ly'abayimba lye mpulira.” Musa bwe yasemberera olusiisira, n'alaba ennyana n'abazina, n'asunguwala nnyo, n'akasuka ebipande by'amayinja bye yali akutte mu ngalo ze, n'abyasiza wansi w'olusozi. N'addira ennyana gye baali bakoze, n'agisaanuusa n'omuliro, n'agisekulasekula, n'efuuka ng'enfuufu, n'agitabula mu mazzi, n'aginywesa Abayisirayeli. N'agamba Arooni nti: “Abantu bano baakukola ki, olyoke obaleke okukola ekibi ekyenkanidde awo obunene?” Arooni n'addamu nti: “Mukama wange, tonsunguwalira, omanyi ng'abantu bano bulijjo balowooza kukola bibi. Baŋŋamba nti: ‘Tukolere balubaale abanaatukulemberamu, kubanga tetumanyi kyatuuka ku Musa, eyatuggya mu nsi y'e Misiri.’ Nze ne mbagamba nti: ‘Buli alina zaabu amuleete.’ Ne bamumpa, ne mmuteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.” Awo Musa bwe yalaba nga Arooni alese abantu okujeema ne basekererwa abalabe baabwe, n'ayimirira mu mulyango gw'olusiisira, n'agamba nti: “Buli ali ku ludda lwa Mukama ajje gye ndi.” Abaleevi bonna ne bakuŋŋaanira w'ali. N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Buli omu ku mmwe akwate ekitala kye, ayiteeyite mu lusiisira, okuva ku mulyango ogumu, okutuuka ku mulyango omulala, atte baganda be ne mikwano gye, ne baliraanwa be.’ ” Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yalagira: ne batta abantu ng'enkumi ssatu ku lunaku olwo. Musa n'agamba Abaleevi nti: “Olwaleero mwewaddeyo okuweereza Mukama, wadde nga mufiiriddwa abaana bammwe ne baganda bammwe, Mukama alyoke abawe mmwe omukisa.” Enkeera Musa n'agamba abantu nti: “Mukoze ekibi kinene nnyo! Kaakano ka nnyambuke eri Mukama, oboolyawo nnaabafunira ekisonyiwo olw'ekibi kyammwe.” Awo Musa n'addayo eri Mukama, n'agamba nti: “Kitalo! Abantu bano bakoze ekibi kinene nnyo: beekoledde balubaale aba zaabu. Nkwegayiridde, basonyiwe ekibi kyabwe. Naye bw'otoobasonyiwe, nsangula mu kitabo mwe wawandiika abantu bo.” Mukama n'agamba Musa nti: “Buli akoze ekibi mu maaso gange, gwe nnaasangula mu kitabo kyange. Kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nakutegeezaako. Kale malayika wange anaakukulemberanga. Naye ekiseera kijja kutuuka mbonereze abantu bano olw'ekibi kyabwe.” Mukama n'abonereza abantu, kubanga baasinza ennyana, Arooni gye yakola. Mukama n'agamba Musa nti: “Ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muve mu kifo kino, muyingire mu nsi gye nalayirira Aburahamu, Yisaaka ne Yakobo, nga ŋŋamba nti: ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’ Ndituma malayika wange okubakulemberamu mmwe, era ndigigobamu Abakanaani, n'Abaamori, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi. Muyingire mu nsi engagga era engimu. Naye nze sijja kugenda wamu nammwe, sikulwa nga mbazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ba mitima mikakanyavu.” Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebinakuwaza ne banakuwala, ne wataba n'omu ayambala bya kwewoomya. Mukama yagamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Muli bantu ba mitima mikakanyavu. Mbeera kugenda nammwe wadde akaseera akatono, nandibazikirizza. Kale kaakano mweyambulemu eby'okwewoomya, ndyoke ndabe kye nnaabakolera.’ ” Abayisirayeli bwe baamala okuva ku Lusozi Horebu, tebaddamu kwambala bya kwewoomya. Abayisirayeli buli lwe baasiisiranga, Musa yatwalanga Eweema Entukuvu, n'agisimba walako ebweru w'olusiisira. Yagituuma Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Era buli muntu eyayagalanga okwebuuza ku Mukama, yagendanga gy'eri, ebweru w'olusiisira. Musa buli lwe yafulumanga olusiisira okulaga mu Weema eyo, abantu bonna baasitukanga, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema zaabwe, ne batunuulira Musa, okutuusa lwe yamalanga okuyingiramu. Musa bwe yamalanga okuyingira mu Weema Entukuvu, empagi ey'ekire yakkanga, n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema eyo, Mukama n'ayogera ne Musa. Abantu bonna bwe baalabanga empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema Entukuvu, nga basituka, ne basinziza ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. Oluvannyuma Musa yaddangayo mu lusiisira. Naye omuweereza we, omuvubuka Yoswa, mutabani wa Nuuni, yasigalanga mu Weema Entukuvu. Musa n'agamba Mukama nti: “Kale oŋŋamba nti: ‘Twala abantu bano.’ Naye n'otombuulira gw'onootuma wamu nange, ate nga wagamba nti ommanyi bulungi, era nsiimibwa mu maaso go. Kale kaakano, nkwegayiridde, oba nga nsiimibwa mu maaso go, ntegeeza by'oyagala nkole, ndyoke nkuweereze, nnyongere okusiimibwa mu maaso go. Era jjukira ng'eggwanga lino bantu bo.” Mukama n'agamba nti: “Nja kugenda wamu naawe, oleme okweraliikirira.” Musa n'amugamba nti: “Ggwe bw'otogenda wamu nange, totuleka kuva wano, kubanga balimanya batya nti nze n'abantu bo, tusiimibwa mu maaso go, bw'otogenda wamu naffe? Ggwe okubeera awamu naffe, kye kinaatwawulanga mu bantu abalala bonna ku nsi.” Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kukola nga bw'osabye, kubanga nkumanyi bulungi, era osiimibwa mu maaso gange.” Musa n'asaba nti: “Nkwegayiridde, ndaga ku kitiibwa kyo.” Mukama n'addamu nti: “Nja kuyita mu maaso go, olabe obulungi bwange bwonna, era nja kwatulira mu maaso go erinnya lyange: Nze MUKAMA. Nkwatirwa ekisa oyo gwe mba njagadde okukwatirwa ekisa, era nsaasira oyo gwe mba njagadde okusaasira.” Era n'agamba nti: “Naye toyinza kundaba mu maaso, kubanga tewali muntu ayinza kundaba, n'aba omulamu. Naye waliwo ekifo ekiri okumpi nange, w'onooyimirira ku jjinja. Bwe nnaaba mpitawo mu kitiibwa kyange, nja kukuteeka mu mwagaanya oguli mu jjinja, nkubikkeko ekibatu kyange, okutuusa nga mmaze okuyitawo, olwo nja kuggyawo ekibatu kyange, olabe amabega gange. Naye tondabe mu maaso.” Mukama n'agamba Musa nti: “Bajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, nje mbiwandiikeko ebigambo ebyali ku bipande by'amayinja ebyasooka, bye wayasa. Enkya ku makya, obe nga weeteeseteese, oyambuke ku Lusozi Sinaayi, weeyanjule gye ndi ku ntikko yaalwo. Tewaba muntu ayambuka naawe, era tewaba n'omu alabikako mu bitundu byonna eby'olusozi, era tewaba endiga wadde ente eziriira mu maaso g'olusozi olwo.” Musa n'abajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka. Enkeera ku makya n'abikwata, n'ayambuka nabyo ku Lusozi Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira. Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'ayatula erinnya lye, MUKAMA. Mukama n'ayita mu maaso ga Musa n'ayatula nti: “Nze MUKAMA. Mukama, Katonda omusaasizi era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, alina okwagala okungi n'obwesigwa, addiramu abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa okwonoona, obujeemu n'ebibi, atalema kubonereza oyo azzizza omusango, era abonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku bannakasatwe ne ku bannakana, olw'ebibi bya bazadde baabwe.” Musa n'ayanguwa, n'akutamya omutwe gwe, n'asinza. N'agamba nti: “Ayi Mukama, oba nga ddala nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde, genda wamu naffe. Abantu bano ba mitima mikakanyavu, naye tusonyiwe ebibi byaffe n'okwonoona kwaffe, era tukkirize okuba abantu bo.” Mukama n'agamba nti: “Kaakano nkola endagaano n'Abayisirayeli. Mu maaso gaabwe bonna, nnaakolanga ebyamagero ebitakolebwanga mu nsi yonna, wadde mu ggwanga eddala lyonna. Era abantu bonna ababeetoolodde, banaalabanga ebikulu, Nze Mukama bye nkola, kubanga kye ndibakolera mmwe kya ntiisa. Mukuumenga ebyo bye mbalagira leero. Nga mmwe mutuuka, ndigobawo Abaamori, n'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi. Mwekuume, muleme okukola endagaano n'abantu abali mu nsi gye mulagamu, endagaano eyo ereme kubasuula mmwe mu mutego. Naye mulimenya alutaari zaabwe, mulizikiriza empagi zaabwe, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera. “Temuubengako mulala gwe musinza nga Katonda, kubanga Nze Mukama, ndi wa buggya, sivuganyizibwa. Temuukolenga ndagaano na bannansi, sikulwa nga bwe baliba bawaayo ebitambiro eri balubaale baabwe be basinza, balibayita okulya ku bitambiro ebyo. Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza balubaale baabwe. “Temwekolerenga balubaale mu kyuma ekisaanuuse. Mukuumenga Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Ennaku musanvu mu mwezi gwa Abibu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe nabalagira, kubanga mu mwezi ogwo, mwe mwaviira mu Misiri. Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, anaabanga wange, era ne mu nsolo zammwe, buli nnume esooka okuzaalibwa k'ebe ndiga oba nte, eneebanga yange. Naye endogoyi esooka okuzaalibwa, munaaginunulanga nga muwaayo omwana gw'endiga. Bwe munaabanga temwagala kuginunula, munaagimenyanga ensingo. Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, munaamununulanga. Tewaabenga ajja mu maaso gange ngalo nsa. “Mulina ennaku mukaaga ez'okukoleramu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu temuukolenga mirimu, ne bwe bibanga biseera bye balimiramu oba bye bakunguliramu. “Mukuumanga Embaga ey'Amakungula, bwe mutandikanga okukungula ebibala byammwe ebisooka eby'eŋŋaano, era mukuumanga Embaga ey'Ensiisira, nga mutereka ebibala byammwe, ku nkomerero y'amakungula. “Emirundi esatu buli mwaka, abasajja bonna mu mmwe banajjanga okunsinza Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Bwe ndimala okugoba ab'amawanga amalala nga mulaba, ne ngaziya ensalo z'ensi yammwe, tewaabenga n'omu agezaako kuwangula nsi yammwe, bwe munaabanga muzze okunsinza nze Mukama, Katonda wammwe, emirundi esatu buli mwaka. “Ekitambiro ky'ensolo kye mumpa, temuukimpeerengako migaati gizimbulukusiddwa. Era temuukuumenga okutuusa enkeera ekitundu ky'ensolo gye mutta ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Muleetanga mu nnyumba ya Mukama, Katonda wammwe, ebibala by'ennimiro zammwe ebisooka okukungulwa. “Temuufumbenga mbuzi nto mu mata ga nnyina waayo.” Mukama n'agamba Musa nti: “Wandiika ebigambo ebyo, kubanga ebigambo ebyo bye neesigamizzaako endagaano gye nkoze naawe, era ne Yisirayeli.” Musa n'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, nga talya era nga tanywa. N'awandiika ku bipande by'amayinja ebigambo eby'endagaano, Ebiragiro Ekkumi. Musa bwe yakka okuva ku Lusozi Sinaayi, ng'akutte ebipande by'amayinja, ebiriko Ebiragiro Ekkumi, teyamanya nti ekyenyi kye kyali kyakaayakana, kubanga yali ayogedde ne Mukama. Arooni n'Abayisirayeli bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng'amaaso ge gaakaayakana, ne batya okumusemberera. Naye Musa n'abayita, Arooni n'abakulembeze bonna ab'ekibiina ne bagenda gy'ali, Musa n'ayogera nabo. Oluvannyuma Abayisirayeli bonna ne basembera w'ali. Musa n'abawa ebiragiro byonna, Mukama bye yamuweera ku Lusozi Sinaayi. Musa bwe yamala okwogera nabo, ne yeebikka ekitambaala mu maaso. Naye buli lwe yayingiranga mu Weema Entukuvu okwogera ne Mukama, nga yeggyako ekitambaala, okutuusa lwe yafulumanga. Bwe yafulumanga, n'ategeezanga Abayisirayeli byonna Mukama bye yabanga amulagidde okwogera. Abayisirayeli baalabanga ekyenyi kye nga kyakaayakana. Olwo Musa ne yeebikkanga ekitambaala mu maaso, okutuusa lwe yayingiranga okwogera ne Mukama. Musa n'ayita ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli. Ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Bino Mukama by'abalagidde mmwe okukola. Ennaku omukaaga ze zinaakolerwangamu emirimu, naye olunaku olw'omusanvu lunaabanga lunaku lwammwe, lukulu lwa kuwummula, oluweereddwayo eri Mukama. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku olwo, anattibwanga. Temuukumenga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa Sabbaato.” Musa n'agamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Kino Mukama ky'alagidde. Muweeyo ekirabo eri Mukama. Buli alina omutima omugabi, aleetere Mukama ekirabo: zaabu, ffeeza n'ekikomo, olugoye olulungi olweru, n'olwa bbululu, n'olwa kakobe, n'olumyufu, n'olukoleddwa mu byoya by'embuzi; amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'embuzi, omuti ogwa akasiya, amafuta g'ettaala, ebyakawoowo ebitabulwa mu muzigo ogusiigibwa, ne mu bubaane obw'okunyookeza; amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika, n'amayinja amalala ag'omuwendo, ag'okuwunda ku kkanzu ne ku kyambalo eky'omu kifuba, ebya ssaabakabona. “Buli mukozi omukugu mu mmwe, ajje akole byonna Mukama by'alagidde: Eweema Entukuvu n'eky'okubikkako, amalobo gaayo n'embaawo zaayo, emikiikiro gyayo, n'ebikondo byayo, n'ebinnya byayo; Essanduuko ey'Endagaano n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'obusaasizi, n'olutimbe olwawulamu; emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda, ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo, ettaala zaakyo n'amafuta g'ettaala; n'ekyoterezo ky'obubaane n'emisituliro gyakyo, omuzigo ogusiigibwa, n'obubaane obw'akawoowo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema Entukuvu, alutaari eyokerwako ebiweebwayo, era n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo; n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna; ebbenseni ne ky'etuulako; entimbe ez'okutimba oluggya, n'ebikondo byalwo n'ebinnya byabyo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'oluggya; enkondo ez'Eweema Entukuvu, n'ez'oluggya, n'emiguwa gyabyo; n'ebyambalo ebirungi ebya bakabona, eby'okuweererezaamu mu Kifo Ekitukuvu, ebyo bye byambalo ebitukuvu, Arooni ne batabani be bye bambala nga baweereza mu bwakabona.” Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu maaso ga Musa. Buli muntu eyayagala, n'aleetera Mukama ekirabo, olw'omulimu ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'okukola ebyetaagibwa mu yo, era n'okukola ebyambalo bya bakabona. Abasajja n'abakazi bonna abaayagala, ne baleeta ebikwaso, empeta ez'oku matu n'ez'oku ngalo, emikuufu egy'omu bulago, n'eby'omuwendo byonna ebya zaabu, ne babiwaayo eri Mukama. Buli muntu eyalina olugoye olulungi olweru, olwa bbululu, olwa kakobe, olumyufu, n'olukoleddwa mu byoya by'embuzi; amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'embuzi; n'abireeta. Buli muntu eyasobola okuwaayo ekirabo ekya ffeeza oba eky'ekikomo, n'akireetera Mukama. Buli muntu eyalina omuti ogwa akasiya oguyinza okukozesebwa ku mulimu, n'aguleeta. Abakazi bonna abamanyi eby'emikono, ne baleeta engoye eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu, n'enjeru, ze baakola. Era ne bakola engoye mu byoya by'embuzi. Abakulembeze ne baleeta amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika n'amalala ag'okuwunda ku kkanzu ne ku kyambalo eky'omu kifuba. Ne baleeta n'ebyakawoowo, n'amafuta, eby'okuteeka mu ttaala, ne mu muzigo ogw'okusiigibwa, ne mu bubaane obuwunya obulungi. Abayisirayeli bonna abasajja n'abakazi abaayagala okubaako bye baleeta ebyetaagibwa ku mulimu, Mukama gwe yalagira Musa okukola, ne babireetera Mukama, awatali kuwalirizibwa. Musa n'agamba Abayisirayeli nti: “Mukama alonze Bezaleeli, mutabani wa Wuuri, era muzzukulu wa Huri, ow'omu Kika kya Yuda. Katonda amujjuzizza mwoyo we, era amuwadde amagezi n'okutegeera, era n'okumanya okukola emirimu egya buli ngeri, n'okutetenkanya eby'okukola mu zaabu ne mu ffeeza ne mu kikomo; n'okusala amayinja ag'omuwendo ag'okuwanga, n'okwola emiti, n'okukola emirimu egy'amagezi egya buli ngeri. Mukama amuwadde ye, ne Oholiyaabu, mutabani wa Ahisamaki, ow'omu Kika kya Daani, amagezi okuyigiriza abalala. Abawadde amagezi okukola emirimu egya buli ngeri, egikolebwa abasazi b'amayinja n'abayiiya; n'abalusi b'engoye ennungi eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu, n'engoye endala. Basobola okukola emirimu gyonna egya buli ngeri, era n'okuyiiya eby'amagezi. “Bezaleeli ne Oholiyaabu n'abakozi abalala, Mukama b'awadde amagezi n'okutegeera, era abamanyi okukola buli kintu ekyetaagibwa okuzimba Eweema Entukuvu, bajja kukola byonna nga Mukama bwe yalagira.” Musa n'ayita Bezaleeli ne Oholiyaabu n'abalala bonna abakugu, Mukama be yawa amagezi abaali baagala okukola. Musa n'abakwasa ebirabo byonna, Abayisirayeli bye baaleeta okuzimba Eweema Entukuvu. Era abantu ne bongera buli nkya okuleetera Musa ebiweebwayo, awatali kuwalirizibwa. Awo abakugu bonna abaali ku mulimu ogw'okuzimba Eweema Entukuvu, ne bavaayo, ne bagamba Musa nti: “Abantu baleeta bingi, ebisukkiridde ku byetaagibwa okumala omulimu, Mukama gwe yalagira okukola.” Musa n'alagira ne balangirira mu lusiisira lwonna nti: “Abasajja n'abakazi balekere awo okuwaayo eby'okukola ku Weema Entukuvu.” Abantu ne bayimirizibwa okuleeta ebintu, kubanga ebyali bireeteddwa, byali bingi okusinga ebyali byetaagibwa okumaliriza omulimu gwonna. Abakozi abaali basingira ddala okumanya omulimu, be baakola Eweema Entukuvu. Baagikola mu mitanda kkumi egikoleddwa mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu n'eya kakobe, n'Emmyufu, ne bagitungako bakerubi. Emitanda gyonna gyali gyenkanankana: nga buli gumu gwa mita kkumi na bbiri obuwanvu, mita bbiri obugazi. Emitanda etaano ne bagigatta gyokka, n'emitanda emirala etaano ne bagigatta gyokka. Ne bakola eŋŋango ez'olugoye olwa bbululu ku lukugiro lwa buli mutanda ogw'oku mabbali w'emitanda emigatte. Ne bateeka eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali ku buli mitanda emigatte, eŋŋango ez'oludda olumu nga zitunuuliraganye n'ez'oludda olulala. Ne bakola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, ne bagatta wamu emitanda gyombi, ne bakolamu Eweema Entukuvu emu. Ate ne bakola eweema ya mitanda kkumi na gumu, egy'olugoye olukoleddwa mu byoya by'embuzi, ebikke ku Weema Entukuvu. Emitanda ekkumi n'ogumu gyali gyenkanankana: nga buli gumu gwa mita kkumi na ssatu obuwanvu, ne mita bbiri obugazi. Emitanda etaano ne bagigatta wamu gyokka. Ne bakola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali, ku buli mitanda emigatte. Ne bakola ebikwaso amakumi ataano eby'ekikomo, bigatte Eweema ebeere emu. Ne bakolayo n'eby'okubikka ku Weema ebirala bibiri: ekimu nga kya maliba ga ndiga eza sseddume, amannyike amamyufu, n'ekirala ekyokungulu, nga kya maliba ga mbuzi. Ne bakola embaawo z'Eweema Entukuvu ez'obusimba, ez'omuti ogwa akasiya. Buli lubaawo lwali lwa mita nnya obuwanvu, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi; nga luliko ennimi bbiri, embaawo kwe zisobola okugattirwa. Baakola embaawo amakumi abiri, ez'oludda olw'ebukiikaddyo. Era ne bakola ebinnya amakumi ana ebya ffeeza wansi waazo, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo, omw'okuteeka ennimi zaalwo ebbiri. Ne bakola embaawo amakumi abiri ez'oludda olw'ebukiikakkono obw'Eweema Entukuvu, n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo. Ez'oku ludda olw'Eweema Entukuvu olw'emabega mu bugwanjuba, ne bakola embaawo mukaaga, n'embaawo bbiri ez'omu nsonda. Ezo zombi baazigatta okuva wansi okutuukira ddala waggulu, ne bazisiba n'empeta emu. Bwe batyo bwe baakola embaawo zombi ez'omu nsonda ebbiri. Zaali embaawo munaana n'ebinnya byazo kkumi na mukaaga, bibiri wansi wa buli lubaawo. Era baakola emikiikiro kkumi n'etaano egy'omuti ogwa akasiya, etaano ku mbaawo ez'oku ludda olumu olw'Eweema Entukuvu, etaano ku mbaawo ez'oku ludda olw'emabega olw'ebugwanjuba. Omukiikiro ogwa wakati w'embaawo baaguyisaamu erudda n'erudda. Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne baziteekako empeta eza zaabu, ez'okusiba emikiikiro, era nagyo ne bagibikkako zaabu. Ne bakola olutimbe mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, ne balutungako bakerubi. Ne bakola empagi nnya ez'omuti ogwa akasiya, okuwanirira olutimbe, ne bazibikkako zaabu, era ne baziteekako amalobo aga zaabu. Ne bazikolera ebinnya bina ebya ffeeza. Omulyango oguyingira mu Weema Entukuvu ne bagukolera olutimbe, mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era olutungiddwako omudalizo. Olutimbe olwo ne balukolera empagi ttaano. Amalobo gaazo n'emitwe gyazo, n'emiziziko gyazo, ne babibikkako zaabu. Ne bazikolera ebinnya bitaano eby'ekikomo. Bezaleeli n'akola essanduuko ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. Munda ne kungulu n'agibikkako zaabu omulungi, n'agikolako omuge ogwa zaabu okugyetoolooza. N'agikolera empeta nnya eza zaabu, n'azisiba ku magulu gaayo ana, ng'ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu, n'endala bbiri ku ludda lwayo olulala. N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako zaabu. N'agiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'essanduuko. N'addira zaabu omulungi, n'akolamu entebe ey'obusaasizi, ya sentimita kikumi mu kkumi obuwanvu, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi. N'akola n'abakerubi babiri aba zaabu omuweese, n'abateeka ku nsonda zombi ez'entebe ey'obusaasizi: omu ku nsonda emu, n'omulala ku nsonda endala, ne bafuukira ddala kitundu kya ntebe ey'obusaasizi, ku nsonda zaayo zombi. Bakerubi baatunuuliragana, era nga batunuulidde entebe ey'obusaasizi, n'ebiwaawaatiro byabwe ebyanjuluze ne bigibikka. N'akola emmeeza ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kinaana mu munaana obuwanvu, sentimita ana mu nnya obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu. N'agibikkako zaabu omulungi, n'akola ku yo omuge ogwa zaabu okugyetoolooza. Yagikolako omukugiro gwa milimita nsanvu mu ttaano okugyetoolooza. Ne ku lukugiro n'akolako omuge ogwa zaabu okulwetoolooza. N'agikolera empeta nnya eza zaabu, n'aziteeka ku nsonda zaayo ennya, awali amagulu gaayo. Empeta ezo, ez'okuteekamu emisituliro gy'emmeeza, n'aziteeka kumpi n'omukugiro. N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako zaabu, emmeeza esitulirwenga ku gyo. N'akola ebikozesebwa ku mmeeza: essowaani n'ensaniya ez'okuteekako obubaane, ensuwa n'ebikopo eby'okukozesanga ku biweebwayo ebinywebwa. N'akola ekikondo ky'ettaala ekya zaabu omulungi. Yakola ekikolo kyakyo n'enduli yaakyo nga bya zaabu omuweese. Ebikopo byakyo n'ebituttwa byakyo n'ebimuli byakyo byali bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo kyennyini. Amatabi mukaaga gaava ku njuyi zaakyo, amatabi asatu ku buli ludda. Buli limu ku matabi omukaaga, lyaliko ebikopo bisatu, ebifaanana ng'ebimuli by'alumondi, okuli ebituttwa n'ekimuli. Ne ku nduli y'ekikondo ky'ettaala, kwaliko ebikopo bina, ebifaanana ng'ebimuli by'alumondi, okuli ebituttwa n'ebimuli. Wansi wa buli matabi abiri, ku matabi omukaaga agava ku nduli y'ekikondo ky'ettaala, waaliwo ekituttwa kimu, nga kya zaabu ye omu n'ow'ekikondo kyennyini. Ebituttwa n'amatabi byali bya zaabu ye omu n'ow'ekikondo kyennyini, nga kyonna awamu kya zaabu omulungi omuweese. Yakola ettaala musanvu ez'okuteeka ku kikondo, era n'akola ne makansi zaakyo, n'ensaniya zaakyo, nga bya zaabu omulungi. Yakozesa kilo amakumi asatu mu ttaano eza zaabu omulungi, okukola ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo byonna. N'akola ekyoterezo ky'obubaane, eky'omuti ogwa akasiya. Kyali kyenkanankana ku njuyi zonna: sentimita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne sentimita amakumi ana mu ttaano obugazi, ate sentimita kyenda obugulumivu. Amayembe gaakyo gaali ga muti gwe gumu ng'ogwakyo. N'abikka zaabu omulungi kungulu waakyo, ne ku njuyi zaakyo ennya, ne ku mayembe gaakyo, era n'akiteekako engule eya zaabu okukyetoolooza. N'akikolera empeta bbiri eza zaabu n'aziteeka wansi w'engule, ku njuyi zaakyo ebbiri, okusiba emisituliro egy'okukisitulirangako. N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako zaabu. Era n'akola omuzigo omutukuvu ogw'okusiiga, n'obubaane obulongoofu obutabuddwamu ebyakawoowo. N'akola alutaari ey'omuti ogwa akasiya, ey'okwokerangako ebiweebwayo. Yali yenkanankana ku njuyi zonna: mita bbiri n'ebitundu bibiri obuwanvu, ne mita bbiri n'ekitundu obugazi, ate mita emu n'ebitundu bisatu obugulumivu. N'akola amayembe gaayo ku nsonda zaayo ennya, nga ga muti gwe gumu n'ogwayo, n'agibikkako ekikomo. Era n'akola eby'okukozesanga ku alutaari: entamu, n'ebijiiko, n'ebibya, ne wuuma, n'ensaniya. Ebintu byayo byonna, n'abikola nga bya kikomo. N'agikolera ekitindiro ekiruke eky'ekikomo, n'akiteeka wansi w'omugo gw'alutaari, ne kibeera wakati w'obugulumivu bwayo. N'akola empeta nnya, n'aziteeka ku nsonda ennya ez'ekitindiro eky'ekikomo, okusiba emisituliro. N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako ekikomo, n'agiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'alutaari, okugisitulirangako. Alutaari yagikola nga ya mbaawo, era ng'erina ebbanga munda. N'akola ebbenseni ey'ekikomo n'ekikondo kyayo eky'ekikomo, ng'akozesa endabirwamu ez'abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. N'akola oluggya lw'Eweema Entukuvu, n'alwetoolooza entimbe ez'olugoye olulukiddwa obulungi. Ku ludda olw'ebukiikaddyo, entimbe zaali za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa amalobo n'oluuma ebya ffeeza ku bikondo byazo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo. Entimbe zaali kye kimu ne ku ludda olw'ebukiikakkono, nga za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa amalobo n'oluuma ebya ffeeza, ku bikondo byazo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo. Ku ludda olw'ebugwanjuba, entimbe zaali za mita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, n'ebikondo kkumi n'ebinnya kkumi, n'amalobo n'oluuma ebya ffeeza. Ku ludda olw'ebugwanjuba olwaliko omulyango, oluggya lwali lwa mita amakumi abiri mu bbiri obugazi. Entimbe zonna okwetooloola oluggya zaali zirukiddwa mu lugoye olulungi. Ebinnya by'ebikondo byali bya kikomo, ate amalobo n'oluuma n'emitwe gy'ebikondo bya ffeeza. Olutimbe olw'omu mulyango lwali lwa lugoye olulungi olulukiddwa mu langi eya bbululu n'eya kakobe n'Emmyufu, nga lutungiddwako omudalizo, nga lwa mita mwenda obuwanvu ne mita bbiri obugulumivu okwenkanankana n'ez'entimbe ez'oluggya. Lwali luwaniriddwa ku bikondo bina, ebiri mu binnya bina eby'ekikomo. Amalobo gaabyo n'emitwe gyabyo, n'oluuma lwabyo byali bya ffeeza. Enkondo zonna ez'eweema n'entimbe okwetooloola oluggya, zaali za kikomo. Luno lwe lukalala lw'ebintu ebikozesebwa mu Weema Entukuvu, eyaterekebwamu ebipande eby'amayinja, okwawandiikibwa ebiragiro ekkumi. Musa ye yalagira Abaleevi okukola olukalala olwo, nga balabirirwa Yitamaari, mutabani wa Arooni kabona. Bezaleeli mutabani wa Wuuri, era muzzukulu wa Huri, ow'omu Kika kya Yuda, ye yakola byonna, Mukama bye yalagira Musa. Era yayambibwako Oholiyaabu mutabani wa Ahisamaki, ow'omu Kika kya Daani, omusazi w'amayinja omutetenkanya, era amanyi okudaliza engoye ennungi, enjeru, n'eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu. Zaabu yenna eyaweebwayo olw'omulimu ogw'okukola Eweema Entukuvu, yaweza talanta amakumi abiri mu mwenda, ne sekeli lusanvu mu asatu, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu. Ate ffeeza eyava mu abo abaabalibwa mu kubalibwa kw'abantu, yaweza talanta kikumi, ne sekeli lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu. Abo abeetaba mu kubalibwa kw'abantu, be bo abaali bawezezza emyaka egy'obukulu amakumi abiri n'okusingawo. Baali emitwalo nkaaga, mu enkumi ssatu, mu bitaano mu ataano. Buli omu yawangayo omuwendo ogwagerekebwa, ogwa beka emu, kye kitundu kya sekeli, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu. Talanta kikumi eza ffeeza, ze zaakozesebwa okukola ebinnya ekikumi ebya Weema Entukuvu n'eby'olutimbe, talanta emu buli kinnya. Sekeli olukumi mu olusanvu mu ensanvu mu ettaano eza ffeeza eyasigalawo, Bezaleeli n'azikolamu obuziziko n'amalobo eby'oku bikondo, era n'azikozesa okubikka emitwe gy'ebikondo ebyo. Ekikomo ekyaweebwayo eri Mukama kyaweza talanta lusanvu ne sekeli enkumi bbiri mu bina. Ekyo kye yakozesa okukola ebinnya by'emyango egy'oluggi lw'Eweema Entukuvu, n'okukola alutaari ey'ekikomo, n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo, n'ebintu byonna eby'oku alutaari, n'ebinnya okwetooloola oluggya, n'ebinnya eby'emyango egy'omulyango gw'oluggya, n'enkondo zonna okwetooloola oluggya. Ne bakozesa ewuzi eza langi eya bbululu n'eya kakobe, n'Emmyufu, okukola ebyambalo ebirukiddwa obulungi, eby'okwambalibwanga bakabona, nga baweereza mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera Arooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne bakola ekkanzu mu lugoye olulukiddwa obulungi n'amagezi mu wuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era n'eza zaabu. Ne baweesa zaabu, ne bamufuula ow'oluwewere, ne bamusalamu obutundu obuli ng'obuwuzi, okubutunga mu lugoye olwa bbululu n'olwa kakobe n'olumyufu, n'olweru, mu ngeri ey'amagezi. Ne bakola ku bibegabega by'ekkanzu obuwuzi bubiri obugatta enjuyi zaayo zombi: olw'omu maaso n'olw'emabega. Olukoba olulukiddwa obulungi n'amagezi mu lugoye lwe lumu nga yo, ne lutungirwa ddala ku yo, nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne bateekateeka amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika, ne bagateeka mu mbu za fuleemu eza zaabu, nga bagoozeeko amannya ga batabani ba Yisirayeli. Ne bagateeka ku buwuzi obw'oku bibegabega by'ekkanzu, okujjuukirirangako batabani ba Yisirayeli, nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne bakola ekyambalo eky'omu kifuba, mu nkola ye emu ey'amagezi nga gye baakolamu ekkanzu: mu lugoye olulukiddwa obulungi mu wuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era n'eza zaabu. Kyali kyenkanankana enjuyi zonna era nga kifunyiddwamu wabiri: sentimita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, ne sentimita amakumi abiri mu bbiri obugazi. Baakiteekamu ennyiriri nnya ez'amayinja ag'omuwendo. Olunyiriri olusooka lwali lwa sarudiyo ne topaazi ne safiro ne karubunkulo. Olunyiriri olwokubiri lwali lwa emeraludo ne safiro ne dayamondi. Olunyiriri olwokusatu lwali lwa yakinto ne agate ne ametisto. N'olunyiriri olwokuna lwali lwa berulo ne onika ne yasipero, nga gateekeddwa mu mbu za fuleemu eza zaabu. Buli limu ku mayinja ago ekkumi n'abiri, ne lyolebwako erinnya limu limu ku mannya ga batabani ba Yisirayeli, okujjukiranga ebika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri. Ne bakola emikuufu egya zaabu omulungi, egy'oku kyambalo eky'omu kifuba, nga girangiddwa ng'emiguwa. Ne bakola embu bbiri eza fuleemu eza zaabu n'empeta bbiri eza zaabu. Empeta ezo ebbiri ne baziteeka ku nsonda zombi eza waggulu ez'ekyambalo eky'omu kifuba. Ne bateeka emikuufu gyombi egya zaabu mu mpeta ebbiri ku nsonda zombi ez'ekyambalo eky'omu kifuba. N'enkomerero endala ez'emikuufu gyombi, ne bazisiba ku mbu ebbiri eza fuleemu. Bwe batyo ekyambalo eky'omu kifuba ne bakigatta ku buwuzi obw'ekibegabega ky'ekkanzu, ku ludda lwayo olw'omu maaso. Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku nsonda zombi eza wansi ez'ekyambalo eky'omu kifuba, ku ludda lwakyo olwomunda, okuliraana ekkanzu. Ne bakola empeta endala bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku buwuzi bwombi obw'oku bibegabega by'ekkanzu, mu kitundu kyabwo ekya wansinsi, ku ludda lw'ekkanzu olw'omu maaso, okumpi ne we yeeyasizaamu, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu oluluke obulungi. Nga Mukama bwe yalagira Musa, ne baddira akawuzi aka langi eya bbululu, ne basiba empeta z'ekyambalo eky'omu kifuba, ku mpeta z'ekkanzu, ekyambalo eky'omu kifuba kiryoke kibeere ku lukoba lw'ekkanzu olulukiddwa obulungi, era kireme kusumululwangako. Ne bakola omunagiro gw'oku kkanzu ogulukiddwa nga gwa langi ya bbululu gwonna. Ekituli omutwe mwe guyita, ne kinywezebwa n'olukugiro okukyetooloola, kireme kuyuzibwa. Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga ag'olugoye olulukiddwa obulungi mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu. Ne bakola n'endege eza zaabu omulungi, ne baziteeka wakati w'amakomamawanga, nga batobeka endege n'ekkomamawanga, n'endege n'ekkomamawanga, okwetooloola ebirenge by'omunagiro ogw'okwambalanga mu kuweereza, nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne bakolera Arooni ne batabani be amasaati, mu lugoye olulukiddwa obulungi. Ne babakolera n'ekiremba eky'oku mutwe, n'enkuufiira, n'empale ennyimpi, byonna eby'engoye ezirukiddwa obulungi, n'olukoba olw'olugoye olulukiddwa obulungi mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era okutungiddwa omudalizo, nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne bakola akapande aka zaabu omulungi, akabonero akategeeza okuweebwayo, ne bakoolako ebigambo bino nti: “AWEEREDDWAYO ERI MUKAMA.” Ne bakasiba n'akawuzi aka langi eya kakobe mu maaso g'ekiremba eky'oku mutwe, nga Mukama bwe yalagira Musa. Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama ne guggwa. Abayisirayeli ne bakola buli kintu nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne baleetera Musa Eweema Entukuvu n'ebintu byayo, byonna: amalobo gaayo, embaawo zaayo, emikiikiro gyayo, ebikondo byayo, n'ebinnya byayo, eky'okugibikkako eky'amaliba g'embuzi, n'olutimbe olugyawulamu; Essanduuko y'Endagaano n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'obusaasizi; emmeeza n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda; ekikondo ky'ettaala, ekya zaabu omulungi, ettaala zaakyo, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta g'ettaala; alutaari eya zaabu, omuzigo ogusiigibwa, obubaane obuwunya akawoowo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema Entukuvu, alutaari ey'ekikomo, n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo, emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, ebbenseni ne ky'etuulako; entimbe ez'okutimba oluggya n'ebikondo byazo, n'ebinnya; olutimbe olw'omu mulyango gw'oluggya, n'emiguwa gyalwo, n'enkondo zaalwo; n'ebintu byonna eby'okukozesa mu Weema Entukuvu ey'okusisinkanirangamu Mukama; ebyambalo ebirungi ebya bakabona eby'okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ebyo bye byambalo ebitukuvu, Arooni ne batabani be bye bambala nga baweereza mu bwakabona. Abayisirayeli baakola omulimu gwonna nga Mukama bwe yalagira Musa. Musa n'akebera omulimu gwonna, n'alaba nga bagumalirizza, era nga bagukoledde ddala nga Mukama bwe yalagira. Musa n'abasabira omukisa. Mukama n'agamba Musa nti: “Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogusooka, olisimba Eweema ey'okunsisinkanirangamu. Oligiteekamu Essanduuko ey'Endagaano, era olitimba olutimbe mu maaso gaayo. Oliyingiza emmeeza n'oteekateeka ebintu ebigiriko. Era oliyingiza ekikondo eky'ettaala, n'oteekako ettaala zaakyo. Alutaari eya zaabu ey'okwoterezangako obubaane, oligiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, n'otimba olutimbe mu mulyango gw'Eweema Entukuvu. Oliteeka mu maaso g'omulyango gwayo alutaari, ey'okwokerangako ebiweebwayo. Oliteeka ebbenseni wakati w'Eweema eyo n'alutaari, n'ogiteekamu amazzi. Olisiba oluggya okwetooloola, n'otimba olutimbe mu mulyango gw'oluggya. “Awo olitukuza Eweema n'ebintu byonna ebirimu, n'obisiigako omuzigo omutukuvu, olwo erifuuka ntukuvu. Era oligusiiga ku alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, n'ogusiiga ne ku bintu byayo byonna, n'ogitukuza. Olwo erifuuka ntukuvu nnyo. Era oligusiiga ku bbenseni n'ekikondo kyayo, n'ogitukuza. “Olwo olireeta Arooni ne batabani be ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi, n'oyambaza Arooni ebyambalo ebitukuvu, n'omusiigako omuzigo, n'omutukuza, ampeerezenga mu bwakabona. Era olireeta batabani be n'obambaza amasaati, n'obasiigako omuzigo nga bw'osiize ku kitaabwe, bampeerezenga mu bwakabona. Era okusiigibwako omuzigo, kulibafuula bakabona obulamu bwabwe bwonna.” Musa n'akola byonna nga Mukama bwe yamulagira. Awo ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogusooka mu mwaka ogwokubiri okuva lwe baava e Misiri, Eweema Entukuvu n'esimbibwa. Musa n'ateekawo ebinnya byayo, n'asimba embaawo zaayo, n'agatta emikiikiro gyayo, n'awangiza empagi zaayo. N'ayanjuluza eky'okugibikkako, era n'agiteekako n'eky'okugibikkako ekyokungulu, nga Mukama bwe yalagira. N'atwala ebipande by'amayinja ebibiri, n'abiteeka mu Ssanduuko ey'Endagaano. N'ateeka emisituliro mu mpeta z'Essanduuko, era n'ateeka kungulu w'Essanduuko, entebe ey'obusaasizi. N'ayingiza Essanduuko ey'Endagaano, nga Mukama bwe yamulagira. N'ateeka emmeeza mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ku ludda lwa Weema eyo olw'ebukiikakkono, ebweru w'olutimbe. N'agiteekako emigaati egiweebwayo eri Mukama, nga Mukama bwe yamulagira. N'ateeka ekikondo ky'ettaala mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, mu maaso g'emmeeza, ku ludda lwa Weema eyo olw'ebukiikaddyo. N'akoleeza ettaala mu maaso ga Mukama, nga Mukama bwe yamulagira. N'ateeka alutaari eya zaabu mu Weema eyo, mu maaso g'olutimbe, n'agyoterezaako obubaane obuwunya akawoowo, nga Mukama bwe yamulagira. N'ateekawo olutimbe mu mulyango gwa Weema Entukuvu. N'ateeka ku mulyango gwa Weema eyo, alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, n'aweerayo ku yo ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, nga Mukama bwe yamulagira. N'ateeka ebbenseni wakati wa Weema eyo n'alutaari, n'agiteekamu amazzi ag'okunaaba. Musa, Arooni ne batabani be, ne banaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe buli lwe baasembereranga alutaari, nga Mukama bwe yalagira Musa. Musa n'akola oluggya okwetooloola Weema Entukuvu n'alutaari, era n'atimba olutimbe mu mulyango gw'oluggya. Bw'atyo n'amaliriza omulimu gwe. Awo ekire ne kibikka ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, era ekitiibwa kya Mukama ne kijjula mu yo. Musa n'atayinza kuyingira mu Weema eyo. Mu lugendo lwabwe lwonna ekire bwe kyavanga ku Weema Entukuvu, Abayisirayeli ne balyoka batambula. Naye ekire bwe kitaavangawo, tebaatambulanga, okutuusa lwe kyavangawo. Abayisirayeli mu lugendo lwabwe lwonna, baalabanga ekire kya Mukama nga kiri waggulu w'Eweema Entukuvu mu budde obw'emisana. Ate mu budde obw'ekiro, baalabanga omuliro nga gwakira waggulu waayo. Mukama n'ayita Musa, n'ayogera naye mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'agamba nti: “Yogera n'Abayisirayeli obagambe nti bwe wabangawo mu mmwe awaayo ekitambiro eri Mukama, anaakiwangayo ng'aggya mu nte ze, oba mu ndiga ze, oba mu mbuzi ze. Bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa ng'aggya mu nte ze, anaawangayo nnume eteriiko kamogo. Anaagiweerangayo mu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama. Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'ekkirizibwa okuba ekitambiro eky'okuddaabiriza okuggyawo ebibi bye. Anattiranga ente eyo mu maaso ga Mukama, bakabona ab'olulyo lwa Arooni ne batwala omusaayi, ne bagumansira ku njuyi zonna ez'alutaari eri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Awo anaabaaganga ensolo eyo, n'agisalaasalamu ebitundu. Bakabona banaakoleezanga omuliro ku alutaari, ne bagutindirako enku. Banaateekanga ku muliro ogwo ebifi by'ennyama, n'omutwe, era n'amasavu. Ebifi by'ennyama n'omutwe era n'amasavu banaabiteekanga ku nku ezo eziri ku muliro, ku alutaari. Omuntu oyo anaayozanga n'amazzi ebyenda byayo, n'ebirenge byayo n'amagulu gaayo, kabona n'ayokera byonna ku alutaari, ne biba ekiweebwayo ekyokebwa. Evvumbe lyakyo eddungi, lisanyusa Mukama. “Bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa ng'aggya mu ndiga ze, oba mu mbuzi ze, anaawangayo nnume eteriiko kamogo. Anaagittiranga ku ludda lw'alutaari olw'ebukiikakkono, bakabona ne bamansira omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'alutaari. Awo anaagisalaasalangamu ebifi, kabona n'abiteeka ku muliro ku alutaari, awamu n'omutwe era n'amasavu. Ebyenda n'amagulu anaabyozanga n'amazzi, kabona n'awaayo ekitambiro eri Mukama, era kyonna n'akyokera ku alutaari. Evvumbe lyakyo eddungi, lisanyusa Mukama. “Era bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa eky'ekinyonyi, anaawangayo enjiibwa oba ejjiba etto. Kabona anaaleetanga akanyonyi ako ku alutaari, n'akanyoola obulago, n'akakutulako omutwe, n'agwokera ku alutaari, omusaayi gwako ne gutonnyolokokera ku mabbali gaayo. Anaakaggyangamu ekisakiro kyako n'ebikirimu, n'abisuula ku mabbali g'alutaari, ku ludda olw'ebuvanjuba, awateekebwa evvu. Anaakakwatanga ebiwaawaatiro, n'akayuzaamu, naye n'atakakutulamu wabiri, n'akookera ku alutaari ku nku eziri ku muliro. Evvumbe lyako eddungi, lisanyusa Mukama. “Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ekitone eky'emmere ey'empeke, anaamalanga kukisekulamu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi. Anaayiwangako omuzigo, n'ateekako n'obubaane, ekitone ekyo n'akireetera bakabona ab'olulyo lwa Arooni. Kabona anaatoolangako olubatu olw'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'abwokya wamu n'omuzigo, n'obubaane bwonna, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo eri Mukama. Evvumbe lyabyo eddungi, lisanyusa Mukama. Ekyo ekisigaddewo ku kitone eky'obuwunga, kinaabeeranga kya bakabona. Kintu kitukuvu nnyo, kubanga kitooleddwa ku kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa. “Ekitone bwe kinaabeeranga eky'emigaati, ginaabanga egitazimbulukusiddwa, egy'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo, oba emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa, egisiigiddwako omuzigo. “Era oba ng'owaayo ekitone eky'emigaati egikaziddwa, ginaabanga gya buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi obutaliimu kizimbulukusa, obutabuddwamu omuzigo. Onoogimenyangamu ebitundu, n'oyiwako omuzigo, n'ogiwaayo, nga kye kitone eky'emmere ey'empeke. “Era bw'onoowangayo emigaati egifumbiddwa mu ntamu, ginaabanga gya buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, wamu n'omuzigo. Onooleetanga eri Mukama ekitone ekikoleddwa mu ebyo, n'okireetera kabona, ye n'akitwala ku alutaari. Kabona anaatoolangako ekitundu kyakyo, kibe akabonero akalaga nti kiweereddwayo eri Mukama, n'akyokera ku alutaari. Evvumbe ly'ekiweebwayo ekyo ekyokebwa, lisanyusa Mukama. Ekisigaddewo ku kiweebwayo eky'obuwunga, kinaabanga kya bakabona. Kitukuvu nnyo, kubanga kitooleddwa ku kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa. “Tewaabengawo kitone kya buwunga kinaaweebwangayo eri Mukama nga kikoleddwa n'ekizimbulukusa. Temuukozesenga kizimbulukusa wadde omubisi gw'enjuki, mu kiweebwayo eri Mukama okwokebwa. Munaawangayo eri Mukama ebitone eby'ebibala ebisooka okukungulwa buli mwaka, naye tebiiyokebwenga ku alutaari. Buli kitone eky'obuwunga, onookirungangamu omunnyo, kubanga omunnyo ke kabonero k'endagaano wakati wo ne Mukama. Ebitone byo byonna obirungangamu omunnyo. Ng'owaayo eri Mukama ekitone eky'ebibala ebisooka okukungulwa, onoowangayo eŋŋaano enkube mu birimba ebikyali ebibisi, ng'eyokeddwako ku muliro. Onoogiteekangako omuzigo n'obubaane. Kabona anaayokyanga ekitundu ky'eŋŋaano, n'eky'omuzigo, wamu n'obubaane bwonna, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo. Kye kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa. “Omuntu bw'anaawangayo ekitambiro olw'okutabagana, anaawangayo ente enkazi oba ennume eteriiko kamogo. Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Awo bakabona ab'olulyo lwa Arooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari, ne bawaayo eri Mukama ebitundu bino eby'ekitambiro: amasavu gonna agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba. Bakabona banaayokyanga ebyo byonna ku alutaari, awamu n'ekitone ekyokebwa ekiri ku nku ku muliro. Evvumbe ly'ekiweebwayo ekyo ekyokebwa, lisanyusa Mukama. “Omuntu bw'anaawangayo endiga, oba embuzi ng'ekitambiro olw'okutabagana, oba nkazi, oba nnume, anaawangayo eteriiko kamogo. Bw'awangayo omwana gw'endiga, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama. Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gw'ekitone kye, n'akittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bakabona banaamansiranga omusaayi gwakyo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari, ne bawaayo eri Mukama ebitundu bino eby'ekitambiro: amasavu, n'omukira ogwassava omulamba okusalira ku ggumba ery'omugongo, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu gonna agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba. Kabona anaayokeranga ebyo byonna ku alutaari ng'ekitone eky'ebyokulya ekiweebwayo eri Mukama. “Omuntu bw'anaawangayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama. Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bakabona banaamansiranga omusaayi gwayo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari, n'awaayo eri Mukama ebitundu byayo bino, bibe ekitone ekiweebwayo ekyokebwa: amasavu gonna agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba. Kabona anaabyokeranga ku alutaari. Kye kitone eky'ebyokulya ekyokebwa, ekisanyusa Mukama. Amasavu gonna ga Mukama. Temuulyenga ku masavu, wadde ku musaayi. Eryo linaabanga etteeka ery'olubeerera, lye munaakuumanga buli we munaabeeranga, ennaku zonna.” Mukama n'agamba Musa ategeeze Abayisirayeli nti buli anaakolanga ekibi, n'asobya nga tagenderedde mu kintu kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira, anaakolanga bino: Ssaabakabona bw'anaakolanga ekibi, bw'atyo n'aleetera abantu be omusango, anaawangayo eri Mukama olw'ekibi kye, ente ennume envubuka eteriiko kamogo. Anaagireetanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ateeka ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso ga Mukama. Awo Ssaabakabona anaatoolanga ku musaayi gw'ente eyo, n'aguleeta mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso g'olutimbe olutukuvu. Awo anaatoolanga ku musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyoterezebwako obubaane obw'akaloosa mu maaso ga Mukama mu Weema. Omusaayi gwonna ogusigaddewo anaaguyiwanga ku ntobo y'alutaari eyokerwako ebitambiro, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Ente eyo eweebwayo olw'ekibi, anaagiggyangamu amasavu gonna agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, nga bwe biggyibwa mu nte ey'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, n'abyokera ku alutaari eyokerwako ebiweebwayo. Naye eddiba lyayo, n'ennyama yaayo yonna, n'omutwe gwayo, n'amagulu gaayo, wamu n'ebyenda byayo, n'obusa bwayo, kwe kugamba ente yonna, anaagitwalanga wabweru w'olusiisira, mu kifo ekirongoofu, ekiyiibwamu evvu, n'agyokera eyo ku muliro ku nku. Eyo awayiibwa evvu, gy'eneeyokerwanga. Oba ekibiina kyonna ekya Yisirayeli bwe kinaakolanga ekibi olw'okumenya ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira, ne kizza omusango nga tekigenderedde, ekibi olunaamanyikanga, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka olw'ekibi, ne bagireeta mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Abakulu b'ekibiina banaateekanga ebibatu byabwe ku mutwe gwayo, nga bali mu maaso ga Mukama, n'ettirwa awo. Ssaabakabona anaaleetanga ku musaayi gw'ente eyo mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'annyikamu engalo ye, n'agumansira emirundi musanvu awali Mukama mu maaso g'olutimbe. Ogumu ku musaayi anaagusiiganga ku mayembe g'alutaari eri awali Mukama mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, omulala gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, eri ku mulyango gw'Eweema eyo ye emu. Ente anaagiggyangamu amasavu gonna, n'agookera ku alutaari. Ku nte eyo, anaakolanga nga bw'akola ku nte eweebwayo olw'ekibi, n'addaabiriza olw'ekibi ky'abantu, abantu abo ne basonyiyibwa. Awo anaatwalanga ente eyo ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bw'ayokya eyo gy'aba awaddeyo olw'ekibi kye. Kino kye kiweebwayo olw'ekibi ky'ekibiina. Omufuzi bw'aba ye akoze ekibi, n'azza omusango olw'okumenya nga tagenderedde ekimu ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira, bw'anaategeezebwanga ekibi kye, anaaleetanga ekitone kye eky'embuzi ennume eteriiko kamogo. Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, we battira ensolo ez'ebitambiro ebyokebwa mu maaso ga Mukama. Kino kye kiweebwayo olw'ekibi. Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gw'ekiweereddwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo. Ogusigaddewo n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari eyo. Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku alutaari, ng'amasavu g'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omufuzi, omufuzi oyo n'asonyiyibwa. Omu ku bantu aba bulijjo bw'anaakolanga ekibi, n'azza omusango, olw'okumenya nga tagenderedde, ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira, bw'anaategeezebwanga ekibi kye, anaaleetanga ekitone eky'embuzi enkazi eteriiko kamogo. Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, we battira ensolo ez'ebitambiro ebyokebwa. Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, omusaayi gwayo gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. Amasavu gaayo gonna anaagaggyangamu ng'amasavu bwe gaggyibwa mu kitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, n'agookera ku alutaari, evvumbe lyago eddungi lisanyusa Mukama. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'omuntu oyo, omuntu oyo n'asonyiyibwa. Omuntu bw'anaaleetanga endiga nga kye kitone ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko kamogo. Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu kifo we battira ebitambiro ebyokebwa. Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, omusaayi gwayo gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. Amasavu gaayo gonna n'agaggyamu, nga bwe baggyamu amasavu g'endiga eweebwayo olw'okutabagana, n'agookera ku alutaari, awamu n'ebyokulya ebiweebwayo eri Mukama. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'oyo ayonoonye, era oyo anaasonyiyibwanga. Omuntu bw'alayizibwa okuwa obujulizi, n'atayogera kye yalaba oba kye yamanya, aba azzizza omusango. Omuntu bwe yeekoona ku kintu ekitali kirongoofu, gamba ng'omulambo gw'ensolo ey'omu ttale oba enfuge eteri nnongoofu, oba ogw'ekyewalula, nga tategedde, aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze. Omuntu bwe yeekoona ku kintu kyonna ekivudde ku muntu ekitali kirongoofu, nga tategedde aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze. Omuntu bw'ayanguyiriza okweyama okukola ekirungi oba ekibi, nga tataddeeyo mwoyo, aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze. Omuntu bw'anazzanga omusango mu kimu ku ebyo, anaayatulanga ekibi kye yakola. Era omutango olw'omusango ogwo gw'azzizza, anaaleetanga eri Mukama endiga oba embuzi enkazi, ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omuntu oyo. Omuntu bw'anaabanga tasobola kuwaayo ndiga oba mbuzi olw'enfuna ye entono, anaaleetanga eri Mukama omutango olw'ekibi kye, enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, enjiibwa emu ya kiweebwayo olw'ekibi, endala ya kiweebwayo ekyokebwa. Anaazireetanga eri kabona, kabona n'asooka okuwaayo eyo eweebwayo olw'ekibi, n'anyoola obulago bwayo, naye n'atagikutulako mutwe. N'amansira omusaayi gwayo ku mabbali g'alutaari, ogusigaddewo n'aguttulukusa ku ntobo y'alutaari. Ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi. Olwo anaawangayo enjiibwa endala, ebe ekiweebwayo ekyokebwa, ng'etteeka bwe liri. Bw'atyo kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi ky'akoze, omuntu oyo n'asonyiyibwa. Naye omuntu bw'anaabanga tasobola kuwaayo njiibwa bbiri, oba mayiba abiri, olw'enfuna ye entono, anaaleetanga kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Taateekengako muzigo wadde obubaane, kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi. Anaabuleetanga eri kabona, kabona oyo n'atoolako olubatu, nga ke kabonero akalaga nti bwonna buweereddwayo eri Mukama, n'abwokera ku alutaari ng'ekiweebwayo ekyokebwa. Kye kiweebwayo olw'ekibi. Bw'atyo kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi ky'akoze, omuntu oyo n'asonyiyibwa. Obuwunga obusigaddewo bunaabanga bwa kabona, nga bwe kiba ku kiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Mukama n'agamba Musa nti: “Omuntu bw'anaakolanga ekibi mu butali bugenderevu, olw'okulemwa okuwaayo ebitukuvu by'ateekwa okusasula eri Mukama, anaaleetanga eri Mukama omutango gwa ndiga ennume, oba gwa mbuzi ennume eteriiko kamogo. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo. Era anaaleetanga n'ekyo kye yalemererwa okusasula, n'ayongeramu ekitundu kyakyo ekyokutaano. Anaakireetanga eri kabona, kabona n'amuddaabiririza ng'awaayo ekitambiro eky'endiga ennume ey'omutango, omuntu oyo n'asonyiyibwa. “Omuntu bw'anaakolanga ekibi, wadde mu butanwa, ng'amenya ekimu ku biragiro bya Mukama, anaabeeranga n'omusango, era anaateekwanga okuwa omutango. Anaaleetanga eri kabona omutango gwa ndiga ennume eteriiko kamogo, gy'aggye mu ndiga ze. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo. Kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi kye yakola mu butanwa, omuntu oyo n'asonyiyibwa. Ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi, omuntu kye yakola mu maaso ga Mukama.” Mukama n'agamba Musa nti: “Wanaabangawo ekiweebwayo, omuntu bw'anaakolanga ekibi mu maaso ga Mukama, ng'agaana okuzzaayo ekintu, Muyisirayeli munne kye yamulekera ng'omusingo, oba ng'amubbako ekintu, oba ng'amulyazaamaanya, oba ng'azudde ekyabula n'akiryazaamanya, n'alayira nti takirabanga. Omuntu bw'abangako ekibi ky'akoze mu kimu ku ebyo byonna, anazzangayo ekyo kye yanyaga oba kye yafuna mu bukumpanya. Ku lunaku lw'alizuulibwa nti alina omusango, anaasasulanga mu bujjuvu nnannyini kintu ekyo, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano. Anaaleetanga eri kabona endiga ennume eteriiko kamogo, ey'omutango oguweebwayo eri Mukama. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo. Kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, omuntu oyo n'asonyiyibwa.” Mukama n'agamba Musa awe Arooni ne batabani be amateeka aganaafuganga ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa, kinaasigalanga ku nku ku alutaari ekiro kyonna, era omuliro gunaakuumibwanga nga gwaka. Awo kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekyeru, n'empale ye enjeru, n'asitula evvu eriva ku kiweebwayo ekyokeddwa ku alutaari, n'aliteeka ku mabbali g'alutaari. Awo anaayambulangamu ebyambalo ebyo n'ayambala ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira, mu kifo ekibalibwa nga kirongoofu. Omuliro oguli ku alutaari gunaakuumibwanga nga gwaka, awatali kuzikira n'akatono. Buli nkya kabona anaaguteekangako enku, n'atereezaako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaagwokerangako amasavu ag'ekiweebwayo olw'okutabagana. Omuliro gunaakuumibwanga nga gwaka bulijjo ku alutaari, awatali kuzikira n'akatono. Gano ge mateeka aganaafuganga ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke: kabona ow'olulyo lwa Arooni anaabiwangayo eri Mukama mu maaso g'alutaari. Anaatoolanga olubatu ku kiweebwayo eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'omuzigo, n'obubaane bwonna obukiriko, n'abyokera ku alutaari, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo eri Mukama. Akaloosa kaabyo kasanyusa Mukama. Ekisigaddewo, Arooni ne batabani be banaakiryanga. Kinaafumbibwangamu emigaati egitazimbulukusiddwa, ne giriirwa mu Kifo Ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Tekiifumbirwengamu kizimbulukusa. Nze Mukama nkiwadde bakabona, kibe omugabo gwabwe, ku byange ebiweebwayo okwokebwa. Kitukuvu nnyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ng'omutango. Mu mirembe gyonna egijja, buli musajja ku b'olulyo lwa Arooni, anaayinzanga okukiryako, ng'omugabo gwabwe ogw'olubeerera, ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama. Buli anaakikoonangako, anaabanga mutukuvu. Mukama n'agamba Musa nti: “Kino kye kitone abooluganda lwa Arooni kye banaawangayo eri Mukama, ku lunaku lwe banaasiigirwangako omuzigo okwawulibwa. Banaawangayo kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ng'eyo eweebwayo buli lunaku, ekitundu kyabwo ekimu ku makya, n'ekitundu kyabwo ekirala olweggulo. Bunaatabulwangamu omuzigo, ne bufumbirwa ku lusaniya olusiikirwako. Bwe bunaamalanga okusiikibwamu ebitole, ne buleetebwa okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'emmere ey'empeke. Akaloosa kaakyo kasanyusa Mukama. Mu mirembe gyonna egijja, ekitone kino kinaaweebwangayo buli muzzukulu wa Arooni akola obwassaabakabona. Kinaayokebwanga kyonna ekiramba. Ekitone eky'emmere ey'empeke ekiweebwayo kabona, tekiiriibwengako. Kinaayokebwanga kyonna.” Mukama n'agamba Musa ategeeze Arooni ne batabani be nti: “Lino lye tteeka erinaafuganga ebiweebwayo olw'ekibi. Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama. Ekiweebwayo kino kitukuvu nnyo. Kabona akiwaayo, ye anaakiryanga. Kinaaliirwanga mu Kifo Ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Buli ekinaakoonanga ku nnyama yaakyo, kinaabanga kitukuvu. Era ekyambalo ekinaamansirwangako omusaayi gwakyo, banaakyolezanga mu Kifo Ekitukuvu. Entamu ey'ebbumba efumbiddwamu ennyama yaakyo, eneeyasibwanga. Naye bw'eneefumbibwanga mu ntamu ey'ekikomo, entamu eyo eneekolokotebwanga n'eyozebwa n'amazzi. Buli musajja ow'omu lulyo lwa Arooni, anaayinzanga okukiryako. Kitukuvu nnyo. Naye singa omusaayi gwakyo guleetebwa mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne gukozesebwa mu mukolo ogw'okuddaabiriza olw'ekibi, tekiiriibwengako; kinaayokebwanga bwokebwa. “Era lino lye tteeka erifuga ekitone ekiweebwayo ng'omutango. Kiba kitukuvu nnyo. Ensolo eweebwayo ng'omutango, enettirwanga ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, awattirwa ensolo eziweebwayo okwokebwa, era omusaayi gwayo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez'alutaari. Amasavu gaayo gonna ganaaweerwangayo ku alutaari: omukira ogwassava, n'amasavu ag'oku byenda, n'ensigo zombi n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba. Kabona anaabyokeranga ku alutaari, bibe ekitone ekiweebwayo eri Mukama eky'ebyokulya. Ekyo kye kitone ekiweebwayo ng'omutango. Buli musajja ow'omu lulyo lwa bakabona, anaayinzanga okukiryako, naye nga kiriirwa mu Kifo Ekitukuvu, kubanga kitukuvu nnyo. “Etteeka lye limu erifuga ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekitone ekiweebwayo ng'omutango: ennyama yaabyo eneetwalibwanga kabona akoze ku kitambiro. Kabona akoze ku kitambiro ekyokebwa, ekireeteddwa omuntu yenna, ye aneetwaliranga eddiba ly'ekitambiro ky'akozeeko. Buli kitone ekiweebwayo eky'obuwunga, ekifumbibwa nga kivumbikiddwa mu kyoto, oba ekisiikibwa mu ntamu, oba ekikalirirwa ku lusaniya, kinaatwalibwanga kabona akikozeeko. Naye ebitone ebiweebwayo byonna eby'emmere ey'empeke ebitali bifumbe, ebitabuddwamu omuzigo, oba ebikalu, binaabanga bya bakabona bonna ab'olulyo lwa Arooni, era banaabigabananga kyenkanyi. “Lino lye tteeka erifuga ekitambiro ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana. Omuntu bw'anaawangayo ekitambiro kino nga kya kwebaza Katonda, anaaweerangako n'ekitone eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, egitabuddwamu omuzigo, oba egy'empewere, egisiigiddwako omuzigo, oba emigaati egikoleddwa mu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ne bunnyikira. Ku kitambiro kye eky'okutabagana ky'awaayo olw'okwebaza Katonda, anaaleeterangako emigaati egizimbulukusiddwa. Anaawangayo eri Mukama omugaati gumu ku buli kika eky'emigaati egyo. Gunaabanga gwa kabona amansira omusaayi gw'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana. Ennyama y'ekitambiro ekyo, eneeriibwanga ku olwo lwe kitambiddwa, tewaabenga esulawo. “Naye ekitambiro omuntu ky'awaayo bwe kiba eky'okutuukiriza obweyamo, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, ennyama yaakyo eneeriibwanga ku olwo lwe kitambiddwa, era efikkawo eneeriibwanga enkeera. Naye ennyama eyo efikkawo n'etuuka ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga omuliro. Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama takkirizenga kitambiro, era taakibalirenga oyo akiwaddeyo. Eneebanga kyenyinyalwa, era buli anaagiryangako, anaafuukanga atali mulongoofu. Ennyama bw'eneekoonanga ku kintu ekitali kirongoofu, teeriibwengako, eneeyokebwanga bwokebwa. “Buli abalibwa okuba omulongoofu, ye anaalyanga ku nnyama ey'ekitambiro kino. Naye omuntu anaagiryangako nga si mulongoofu, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. Era omuntu bw'anaakoonanga ku kintu ekitali kirongoofu, ekiva ku muntu oba ku nsolo, oba ku kintu ekirala eky'omuzizo, n'alya ku nnyama y'ekitambiro ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana, omuntu oyo anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.” Mukama n'alagira Musa, agambe Abayisirayeli nti: “Temuulyenga masavu ga nte n'ag'endiga, wadde ag'embuzi. Amasavu g'ensolo efudde yokka, n'amasavu g'eyo ettiddwa ensolo enkambwe, tegaaliibwenga n'akatono, naye ganaayinzanga okukozesebwa olw'emigaso emirala. Buli alya amasavu g'ensolo abantu gye bawaayo eri Mukama ng'ekiweebwayo ekyokebwa, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. Yonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi gwonna, ka gube gwa kinyonyi oba gwa nsolo. Buli anaalyanga ku musaayi gwonna, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.” Mukama n'agamba Musa ategeeze Abayisirayeli nti: “Buli awaayo ekitambiro olw'okutabagana, anaaleetanga ekitundu kyakyo, kibe ekitone eri Mukama, n'akireeta ye yennyini mu ngalo ze, kibe ekiweebwayo ekyokebwa. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba, bibe ekitone ekiwuubibwa eri Mukama. Kabona anaayokeranga amasavu ku alutaari, naye ekifuba kinaabanga kya ba lulyo lwa Arooni. Ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona, kibe ekiweebwayo ekiggyibwa ku kitambiro eky'okutabagana. Oyo ku b'olulyo lwa Arooni akoze ku musaayi ne ku masavu, ye anaakiweebwanga kibe omugabo gwe. Ekifuba ekiwuubibwa, n'ekisambi ekya ddyo ekisitulibwa, bye nzigye ku Bayisirayeli, ku bitambiro bye bawaayo olw'okutabagana, ne mbiwa Arooni n'abaana be. Bino Abayisirayeli banaateekwanga okubiwa bakabona ennaku zonna. Ogwo gwe mugabo oguggyibwa ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama, ogwaweebwa Arooni ne batabani be ku lunaku lwe baafukibwako omuzigo, ne baawulibwa okuweereza Mukama mu bwakabona. Ku lunaku olwo Mukama yalagira Abayisirayeli okubawanga omugabo ogwo. Ekyo Abayisirayeli banaateekwanga okukituukiriza ennaku zonna.” Ago ge mateeka agafuga ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo olw'ekibi, n'ebiweebwayo ng'omutango, n'ebiweebwayo olw'okwawulibwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Eyo ku lusozi Sinaayi mu ddungu, Mukama gye yaweera Musa ebiragiro ebyo, ku lunaku lwe yagambirako Abayisirayeli okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama. Mukama n'agamba Musa nti: “Twala Arooni ne batabani be, otwale n'ebyambalo n'omuzigo ogusiigibwa, n'ente ey'ekitone eky'okuwaayo olw'ekibi, n'endiga ennume bbiri, n'ekibbo ekirimu emigaati egitazimbulukusiddwa, okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu.” Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. Ekibiina ky'abantu ne kikuŋŋaanira ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Musa n'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Ekigenda okukolebwa ky'ekyo Mukama ky'alagidde.” Musa n'aleeta Arooni ne batabani be, n'akola omukolo ogw'okubanaaza n'amazzi. N'ayambaza Arooni essaati n'ekkanzu, n'amusiba olukoba mu kiwato, n'amwambaza n'omunagiro, n'agusiba n'olukoba olwalukibwa obulungi, n'agunyweza mu kiwato kye. N'amwambaza ekyambalo eky'oku kifuba, n'akiteekamu ebiyitibwa Wurimu ne Tummimu. N'amusiba ekiremba ku mutwe, era awo mu maaso gaakyo n'akisibako akapande aka zaabu, ye ngule entukuvu, nga Mukama bwe yamulagira. Awo Musa n'addira omuzigo ogusiigibwa, n'agusiiga ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne ku bintu byonna ebigirimu, n'abitukuza okubyawulira Mukama. N'atoola ku muzigo, n'agumansira emirundi musanvu ku alutaari ne ku bintu byayo byonna, ne ku bbenseni ne ku kikondo kyayo, okubitukuza okubyawulira Mukama. N'ayawula Arooni ng'amufukako omuzigo ku mutwe. Awo Musa n'aleeta batabani ba Arooni, n'abambaza amasaati, n'abasiba enkoba mu biwato, era n'ebiremba ku mitwe, nga Mukama bwe yamulagira. N'aleeta ente ey'okuwaayo olw'ekibi, Arooni ne batabani be ne bateeka ebibatu byabwe ku mutwe gwayo. Musa n'agitta, n'atoola ku musaayi, n'agusiigisa engalo ye ku mayembe g'alutaari ku njuyi zaayo zonna okugyawulira Mukama. Omusaayi gwonna ogusigaddewo, n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. Bw'atyo n'agyawulira Mukama era n'addaabiriza ku lwayo. Musa n'addira amasavu gonna agali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'abyokera byonna ku alutaari. Ente yonna esigaddewo: eddiba, n'ennyama, n'ebyenda, n'abyokya omuliro wabweru w'olusiisira, nga Mukama bwe yamulagira. Awo Musa n'aleeta endiga ennume ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa. Arooni ne batabani ne ne bateeka ebibatu byabwe ku mutwe gwayo. Musa n'agitta, n'amansira omusaayi ku njuyi zonna ez'alutaari. Awo Musa n'aleeta endiga ennume eyookubiri, olw'okwawulibwa kwa bakabona. Arooni ne batabani be ne bateeka ebibatu byabwe ku mutwe gwayo. Musa n'agitta, n'addira ku musaayi, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Arooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kyalakisajja eky'ekigere kye ekya ddyo. N'aleeta batabani ba Arooni, n'asiiga omusaayi ogumu ku nsonda z'amatu gaabwe aga ddyo, ku binkumu by'emikono gyabwe egya ddyo, ne ku byalabisajja eby'ebigere byabwe ebya ddyo. Omusaayi ogwasigalawo n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari. N'addira amasavu, n'omukira ogwassava, n'amasavu gonna ag'oku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo, n'atoola n'omugaati gumu mu kibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, egiweebwayo eri Mukama, n'omugaati gumu ogutabuddwamu omuzigo, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo. Byonna n'abikwasa Arooni ne batabani be, ne babiwuuba, ne biba ekiweebwayo nga kiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku alutaari, ku kiweebwayo ekyokebwa, ekiweereddwayo olw'omukolo ogw'okwawula. Kino kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira obulungi Mukama. Musa n'akwata ekifuba, n'akiwuuba, kibe ekiweebwayo nga kiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Ogwo gwe gwali omugabo gwa Musa ku ndiga ey'omukolo ogw'okwawula, nga Mukama bwe yalagira Musa. Musa n'atoola ku muzigo ogusiigibwa, ne ku musaayi ogwali ku alutaari, n'abimansira ku Arooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw'atyo n'ayawulira Mukama Arooni ne batabani be, era n'ebyambalo byabwe. Musa n'agamba Arooni ne batabani be nti: “Mutwale ennyama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, mugifumbe era mugiriire eyo, n'emigaati egiri mu kibbo eky'ebitone eby'omukolo ogw'okwawula, nga Mukama bwe yandagira nti Arooni ne batabani be bagiryanga. Era ekisigalawo ku nnyama ne ku migaati, munaakyokya n'omuliro. Temujja kuva ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okumala ennaku musanvu, okutuusa emikolo egy'okwawulibwa kwammwe lwe girimalirizibwa. Mukama yatulagira okukola ebyo bye tukoze olwaleero, olw'okuggyawo ebibi byammwe. Muteekwa okusigala ekiro n'emisana ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okumala ennaku musanvu, okutuukiriza ekiragiro kya Mukama, muleme kufa, kubanga bw'atyo Mukama bwe yandagira.” Awo Arooni ne batabani be ne bakola byonna Mukama bye yalagira ng'ayita mu Musa. Ku lunaku olwaddako ng'emikolo egy'okwawula giwedde, Musa n'ayita Arooni ne batabani be n'abakulembeze ba Yisirayeli, n'agamba Arooni nti: “Twala ente ennume ento, n'endiga ennume, zombi ezitaliiko kamogo, oziweeyo eri Mukama, ente ennume ebe ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume ebe ekiweebwayo ekyokebwa. Awo ogambe Abayisirayeli, batwale embuzi ennume, ebe ekiweebwayo olw'ekibi, n'ennyana ey'omwaka ogumu, n'omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, zombi ezitaliiko kamogo, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, n'ente n'endiga ennume zibe ekiweebwayo olw'okutabagana, babitambire mu maaso ga Mukama, awamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, ekitabuddwamu omuzigo. Bakole bwe batyo, kubanga Mukama anaabalabikira olwaleero.” Ebyo byonna Musa by'alagidde, ne babireeta mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Ekibiina kyonna ne kisembera, ne kiyimirira mu maaso ga Mukama. Musa n'agamba nti: “Mukama abalagidde okukola kino, era ekitiibwa kye kinaabalabikira.” Awo n'agamba Arooni nti: “Sembera kumpi n'alutaari, oweeyo ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, oddaabirize ku lulwo ne ku lw'abantu. Waayo ekitone eky'abantu, oddaabirize ku lwabwe, nga Mukama bwe yalagira.” Awo Arooni n'asembera okumpi n'alutaari, n'atta ente ennume ento, nga kye kitone ekiweebwayo olw'ebibi ebibye. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'annyikamu engalo ye, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari, ogusigaddewo n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. N'alyoka ayokera ku alutaari, amasavu, n'ensigo, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, nga Mukama bwe yalagira Musa. Kyokka ennyama n'eddiba, n'abyokera wabweru w'olusiisira. N'atta ensolo ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari. Ne bamuleetera omutwe n'ebitundu ebirala eby'ensolo eyo, n'abyokera ku alutaari. N'ayoza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku alutaari, ku bitundu ebirala eby'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa. Bwe yamala ebyo, n'aleeta ebitone eby'abantu. N'addira embuzi ey'okuwaayo olw'ebibi by'abantu. N'agitta, n'agiwaayo, nga bwe yakola ng'awaayo olw'ebibi bye. Era n'aleeta ensolo ey'ekitone ekiweebwayo ekyokebwa, n'agiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali. N'aleeta ekitone ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'atoolako olubatu lw'obuwunga, n'abwokera ku alutaari, ng'abwongera ku kitone ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. N'atta ente n'endiga ennume, ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, kye yawaayo olw'abantu. Batabani be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku njuyi zonna ez'alutaari. Amasavu n'ensigo n'ebitundu ebisinga obulungi eby'ekibumba eby'ente n'endiga ennume, n'abiteeka ku bifuba eby'ensolo ezo, byonna n'abitwala ku alutaari. N'ayokera amasavu ku alutaari. N'awaayo eri Mukama ebifuba n'amagulu aga ddyo, ng'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama, ebiba ebya bakabona, nga Musa bwe yalagira. Arooni bwe yamala okuwaayo ebitambiro ebyo: ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'okutabagana, n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa. N'akka wansi. Musa ne Arooni ne bayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bwe baafuluma, ne basabira abantu omukisa, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna. Amangwago Mukama n'asindika omuliro, ne gwokera ku alutaari ekiweebwayo ekyokebwa era n'amasavu. Abantu bwe baagulaba, bonna ne baleekaana, ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka. Awo Nadabu ne Abihu, batabani ba Arooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bateekako obubaane, ne baguleeta mu maaso ga Mukama. Naye omuliro ogwo tegwali mutukuvu, kubanga Mukama si ye yalagira okuguleeta. Amangwago Mukama n'asindika omuliro, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ge. Awo Musa n'agamba Arooni nti: “Kino Mukama kye yayogerako, bwe yagamba nti: ‘Bonna abampeereza bateekwa okussaamu obutukuvu bwange ekitiibwa. Era nnaagulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Arooni n'asirika. Musa n'ayita Misayeli ne Elizafani, batabani ba Wuzziyeeli, kojja wa Arooni, n'abagamba nti: “Mujje musitule emirambo gya baganda bammwe, mugiggye mu Weema Entukuvu, mugitwale wabweru w'olusiisira.” Ne bajja, ne bagisitulira ku ngoye, ne bagitwala wabweru w'olusiisira, nga Musa bwe yalagira. Musa n'agamba Arooni ne batabani be Eleyazaari ne Yitamaari nti: “Temutankuula enviiri zammwe, wadde okuyuza ebyambalo byammwe, okulaga nti munakuwadde. Bwe munaakola ekyo, mujja kufa, era Mukama ajja kusunguwalira ekibiina kyonna. Naye Bayisirayeli bannammwe bonna, bakkirizibwa okukungubagira okufiirwa okwo, okuleeteddwa omuliro Mukama gw'asindise. Temuva ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, lwe mutaafe, kubanga muliko omuzigo ogwabasiigiddwa okwawulirwa Mukama.” Ne bakola nga Musa bwe yagamba. Mukama n'agamba Arooni nti: “Ggwe ne batabani bo, bwe munaabanga munywedde ku mwenge, oba ku kitamiiza kyonna, temuuyingirenga mu Weema ey'okunsisinkanirangamu. Bwe mulikikola, mugenda kufa. Etteeka lino linaakuumibwanga ab'ezzadde lyammwe ennaku zonna. Mwawulenga ebyo ebitukuvu, ku bikozesebwa ebya bulijjo, ebyo ebirongoofu, n'ebitali birongoofu. Era muyigirizenga Abayisirayeli amateeka ge mbawadde nga mpita mu Musa.” Arooni ne batabani be Eleyazaari ne Yitamaari abaasigalawo, Musa n'abagamba nti: “Mutwale ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekisigaddewo ku biweebwayo eri Mukama ebyokebwa, mukikolemu emigaati egitazimbulukusiddwa, mugiriire ku mabbali g'alutaari, kubanga ekiweebwayo ekyo kitukuvu nnyo. Mugiriire mu Kifo Ekitukuvu. Gwe mugabo gwo ggwe Arooni, n'ogwa batabani bo, ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama. Ekyo Mukama kye yandagira. Naye ekifuba ekiweebwayo nga kiwuubibwa, n'ekisambi ekiweebwayo nga kisitulibwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo munaayinzanga okubiriira mu kifo kyonna ekirongoofu, kubanga ebyo bikuweebwa ggwe n'abaana bo, nga gwe mugabo gwammwe bakabona, ku bitambiro ebiweebwayo Abayisirayeli olw'okutabagana. Banaaleetanga ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwa nga baleeta amasavu okuba ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa. Ebitundu ebyo banaabiwuubanga, bibe ebiweebwayo ebiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Era binaabanga bibyo era bya baana bo ennaku zonna, nga Mukama bwe yalagira.” Musa n'abuuza ebifa ku mbuzi ey'ekitone ekiweebwayo olw'ekibi. N'azuula nga yayokeddwa dda. N'asunguwalira Eleyazaari ne Yitamaari, batabani ba Arooni abaasigalawo. N'ababuuza nti: “Ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, lwaki temukiriiridde mu Kifo Ekitukuvu? Ekitone ekyo kitukuvu nnyo, era Mukama yakibawa okuggyawo ebibi by'ekibiina, n'okuddaabiriza ku lw'ekibiina mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwakyo nga bwe gutaaleeteddwa mu Weema Entukuvu, mwandikiriiridde omwo, nga bwe nalagira.” Awo Arooni n'addamu nti: “Olwaleero abantu baleese ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, era bawaddeyo ekiweebwayo ekyokebwa, naye era ne ntuukibwako ebizibu bino byonna. Kale era singa ndidde ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, Mukama yandisiimye?” Musa bwe yawulira ebyo, n'amatira. Mukama n'agamba Musa ne Arooni bategeeze Abayisirayeli nti: “Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi. Buli nsolo erina ebinuulo ebyawulemu era ezza obwenkulumu, eyo gye munaalyanga. Era temuulyenga mbizzi. Munaagibaliranga mu bitali birongofu, kubanga newaakubadde erina ebinuulo ebyawulemu, naye tezza bwenkulumu. Temuulyenga ku nsolo ezo, wadde okuzikoonangako nga zifudde. Si nnongoofu. “Munaayinzanga okulya buli kyannyanja ekirina amaggwa n'amagalagamba. Naye buli kiramu ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli. Ebyo munaabizizanga. Temuubiryengako, wadde okubikoonangako nga bifudde. Buli kibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli. “Mu binyonyi bye munaazizanga era bye mutaalyenga, mwe muli ennunda, n'empungu, ne makwanzi, ne kamunye, n'eddiirawamu n'ebirala ebiri mu bika byalyo; ne nnamuŋŋoona owa buli kika; ne mmaaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'ebirala ebiri mu kika kyayo, n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega; ne kasida, ne mpaabaana n'ebirala ebiri mu kika kye, n'ekkookootezi, n'ekinyira. “Munaazizanga ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebitambuza amagulu ana, okuggyako ebyo ebibuukabuuka ku magulu gaabyo ku ttaka. Munaayinzanga okulya enzige n'enseenene, n'ejjanzi, n'ebirala eby'ebika ebyo. Naye ebiwuka byonna ebirala ebirina ebiwaawaatiro, n'amagulu ana, munaabizizanga. “Ebisolo bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu. Buli anaakoonanga ku mulambo gwabyo, anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi, na buli anaasitulanga omulambo gwabyo, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi: buli nsolo erina ebinuulo naye nga si byawulemu era nga tezza bwenkulumu, munaagibaliranga mu zitali nnongoofu. Buli anaagikoonangako ng'efudde, taabenga mulongoofu. Era buli nsolo ey'amagulu ana erina amaala, munaagibaliranga mu zitali nnongoofu. Buli anaagyekoonangako, anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo anaasitulanga omulambo gw'ensolo eyo, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ensolo ezo munaazibaliranga mu zitali nnongoofu. “Mu bitambulira ku ttaka nga byewalula, na bino munaabibaliranga mu bitali birongoofu: eggunju, n'emmese, n'ekkonkome eddene n'ebirala ebiri mu kika kyalyo, n'ekinya, enswaswa, n'omunya, n'ekkonkome, ne nnawolovu. Ebyo munaabibaliranga mu bitali birongoofu mu byonna ebyewalula. Buli anaabikoonangako nga bifudde, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era buli kintu ekinagwibwangako ebintu ebyo nga bifudde, ka kibe kya muti, oba ka kibe lugoye, oba ddiba, oba nsawo, oba ekirala kyonna ekikozesebwa, tekiibenga kirongoofu. Kinaateekwanga okunnyikibwa mu mazzi, naye ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi, ne kiryoka kiba ekirongoofu. Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo kinaayasibwanga. Buli kyakulya ekyandisobodde okuliika, naye ne kiyiibwako amazzi agavudde mu ky'ebbumba ekyo, tekiibenga kirongoofu, era buli kyakunywa mu ky'ebbumba ekyo, tekiibenga kirongoofu. Buli kintu ekinaagwibwangako ebintu ebyo nga bifudde, tekiibenga kirongoofu: oba kyoto, oba masiga ga ntamu, binaamenyebwanga. Si birongoofu, era munaabizizanga. Naye oluzzi oba ttanka erimu amazzi, binaabanga birongoofu, newaakubadde ng'ekirala kyonna ekikoona ku bintu ebyo nga bifudde tekiba kirongoofu. Singa ekimu ku byo ekifudde kigwa ku nsigo egenda okusigibwa, ensigo esigala nnongoofu. Naye singa ensigo eba ennyikiddwa mu mazzi, ekimu ku byo ekifudde ne kigwa ku yo, ensigo eyo temuugiyitenga nnongoofu. “Singa ensolo eyinza okuliibwa efa, buli agikoonako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ate oyo anaagiryangako, anaayozanga ebyambalo bye era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaagisitulanga ng'efudde, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. “Munaazizanga obusolo obutono obutambula ku nsi, temuubulyenga, oba bwewalula, oba butambuza amagulu ana, oba bulina amagulu mangi. Temweyonoonanga na byewalula ebyo, era temwefuulanga batali balongoofu olw'ebitonde ebyo. Nze Mukama Katonda wammwe. Mubeerenga batuukirivu, kubanga nze ndi mutuukirivu. Temwejaajaamyanga olw'ekintu n'ekimu ekyekululira ku ttaka. Nze Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke mbenga Katonda wammwe. Kale mubeerenga batuukirivu, kubanga nze ndi mutuukirivu. “Lino lye tteeka erifa ku nsolo ne ku binyonyi, ne ku buli kiramu ekibeera mu mazzi, ne ku buli kiramu ekitambula ku ttaka, ery'okwawula ebirongoofu ku bitali birongoofu, n'okwawula ebiramu ebikkirizibwa okuliibwa, ku bitakkirizibwa.” Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, ennaku omusanvu eziddirira, taabenga mulongoofu, nga bw'ataba mulongoofu mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi. Ku lunaku olw'omunaana, omwana anaakomolebwanga. Olwo omukazi oyo anaamalanga ennaku amakumi asatu mu ssatu ng'abalibwa nti tannatukuzibwa, olw'omusaayi ogwamuvaamu ng'azaala. Taakwatenga ku kintu kitukuvu, wadde okuyingira mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe zinaggwangako. Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, anaamalanga ennaku kkumi na nnya nga si mulongoofu, nga bw'aba mu biseera bye ebya buli mwezi. Olwo anaamalanga ennaku endala nkaaga mu mukaaga ng'abalibwa nti tannatukuzibwa olw'omusaayi ogwamuvaamu ng'azaala. “Awo ennaku ze ez'okutukuzibwa bwe zinaggwangako, ez'omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala, omukazi oyo anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, gube ekitone ekiweebwayo ekyokebwa, n'enjiibwa, oba ejjiba etto, okuba ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaawangayo ekitone ekyo eri Mukama n'addaabiririza omukazi oyo, omukazi oyo n'atukuzibwa olw'omusaayi ogwamuvaamu. Eryo lye tteeka erifuga omukazi azaala omwana, ow'obulenzi oba ow'obuwala. “Omukazi bw'aba tasobola kuleeta mwana gwa ndiga olw'enfuna ye entono, anaaleetanga amayiba amato abiri, oba enjiibwa bbiri, emu ebe ekiweebwayo ekyokebwa, n'endala ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaamuddaabiririzanga, n'aba mulongoofu.” Mukama n'agamba Musa nti: “Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba, oba ejjute, oba embalabe erungudde, ku lususu lwe, nga kiyinza okufuuka endwadde y'ebigenge, anaaleetebwanga eri Arooni kabona, oba eri omu ku bakabona ab'olulyo lwa Arooni. Kabona anaakeberanga endwadde eri ku lususu. Obwoya obuli awalwadde bwe bunaabanga bufuuse obweru, n'endwadde ng'erabika eyingidde munda okuyisa olususu, eyo nga ye ndwadde y'ebigenge. Awo kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Naye ekizimba ekirungudde bwe kiba ekyeru, nga kirabika tekiyingidde munda kuyisa lususu, n'obwoya nga tebufuuse bweru, kabona anaakuumiranga omuntu oyo mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu. Awo kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Bw'anaalabanga ng'endwadde esigadde nga bwe yali, teyeeyongedde kubuna walala ku lususu, anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku endala musanvu. Kabona anaamukeberanga nate ku lunaku olw'omusanvu. Endwadde bw'eba ng'ekendedde, era nga teyeeyongedde kubuna walala ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, alina kizimba buzimba. Awo omuntu oyo anaayozanga ebyambalo bye, n'aba mulongoofu. Naye ekizimba bwe kineeyongeranga okubuna awalala ku lususu, nga kabona amaze okumukebera n'okumulangirira bw'ali omulongoofu, anaddangamu okweyanjula eri kabona. Kabona anaddangamu okumukebera. Ekizimba bwe kiba nga kibunye awalala ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu, nga by'alina bye bigenge. “Omuntu ng'akwatiddwa endwadde y'ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona, n'amukebera. Bw'aba n'ekizimba ekyeru ku lususu lwe, ekyerusizza n'obwoya, era ng'omubiri gwesaliridde awazimbye, ebyo nga bye bigenge ebitawona ku lususu lwe. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Tekyetaagisa kumukuumira mu kifo yekka, kubanga ddala oyo si mulongoofu. Ebigenge bwe bisaasaana ne bibuna omulwadde, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, kabona anaamukeberanga. Bw'anaalabanga ng'ebigenge bibunye omubiri gwe gwonna, anaamulangiriranga nti mulongoofu. Olususu lwonna bwe luba lufuuse lweru, oyo abalibwa nti mulongoofu. Naye bw'anaalabikangako ebbwa, taabenga mulongoofu. Kabona anaamukeberanga nate. Bw'anaalabanga ebbwa, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebbwa bye bigenge. Olwo omuntu oyo si mulongoofu. Naye ebbwa bwe liwona ne waddawo obupeeruufu, omuntu oyo anaagendanga eri kabona, kabona n'addamu okumukebera. Awaali ebbwa bwe waba nga wapeeruuse, oyo nga mulongoofu, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu. “Omuntu bw'anaabanga n'ejjute ne liwona, naye oluvannyuma awaali ejjute ne waddawo ekizimba ekyeru, oba ebbala erimyukirivu, omuntu oyo anaagendanga eri kabona. Kabona anaamukeberanga. Bwe kinaalabikanga ng'ebbala liyingidde munda okuyisa olususu, n'obwoya bwawo nga bweruse, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ye ndwadde y'ebigenge efulumye mu jjute. Naye kabona bw'anaakeberanga nga tewali bwoya bweru, era nga teweesimye kuyisa lususu, naye nga langi yaawo ntangaavu, olwo kabona anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu. Ebbala bwe linaabunanga awalala ku lususu, olwo kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu, mulwadde. Naye ebbala bwe linaakomanga awo, ne litabuna walala, eyo nga ye nkovu y'ejjute eriwonye. Awo kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu. “Omuntu bw'anaayokebwanga omuliro, omubiri ogwokeddwa ne gweruka, oba ne wafuuka aweeruyeru era awamyukirivu, kabona anaamukeberanga. Obwoya mu kifo ekyo bwe bunaafuukanga obweru, era ne kirabika nga weesimye okuyisa olususu, ebyo bye bigenge ebifulumye awaayokebwa. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba nga tewali bwoya bweru, era nga teweesimye kuyisa lususu, naye nga langi yaawo ntangaavu, kabona anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu. Kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Awalungudde bwe wanaabunanga awalala ku lususu, eneebanga ndwadde ya bigenge. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Naye awalungudde bwe wanaakomanga awo, ne wateeyongera kubuna walala, era nga langi yaawo ntangaavu, ebyo nga si bigenge. Era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, kubanga eyo nkovu ya muliro. “Omusajja oba omukazi bw'abanga n'endwadde ku mutwe oba ku kalevu, kabona anaagikeberanga. Bw'eneerabikanga ng'esimye okuyisa ku lususu, era ng'enviiri ezirimu za kyenvu, era nga za ntalaga, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebyo bye bigenge eby'oku mutwe, oba eby'oku kalevu. Era kabona bw'anaakeberanga endwadde, nga terabika nti esimye okuyisa ku lususu, naye nga tewali nviiri nzirugavu, kabona anaakuumiranga omulwadde oyo mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu. Kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Endwadde bw'eneebanga tebunye walala, era nga tewali nviiri za kyenvu, era nga terabika nti eyingidde okuyisa olususu, omulwadde anaamwangako enviiri ze okuggyako awo awalwadde, kabona n'amukuumira mu kifo yekka, okumala ennaku endala musanvu. Ku lunaku olw'omusanvu kabona anaakeberanga awalwadde. Endwadde bw'eneebanga tebunye walala ku lususu, era nga tekirabika nti eyingidde okuyisa olususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu. Omulwadde anaayozanga ebyambalo bye, n'aba mulongoofu. Naye endwadde bw'eneebunanga awalala ku lususu ng'omulwadde amaze okulangirirwa nti mulongoofu, awo kabona anaamukeberanga. Bw'eneebanga ebunye awalala ku lususu, tekyetaagisenga kunoonya nviiri za kyenvu. Ddala oyo si mulongoofu. Naye kabona bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo, era ng'enviiri enzirugavu zimezeewo, endwadde ng'ewonye, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu. “Omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'amabala ameeru ku lususu, kabona anaamukeberanga. Amabala bwe ganaabanga amapeeruufu, obwo nga butulututtu obufulumye mu lususu. Oyo mulongoofu. Naye ekibambya ekimyukirivu, oba ekyeruyeru, bwe kirabika awakuunyuuse enviiri, eyo nga ndwadde ya bigenge. Kabona anaamukeberanga. Bw'anaabangako ekibambya ekimyukirivu era ekyeruyeru, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu, olw'ebigenge ku mutwe gwe. “Omuntu alwadde ebigenge, anaayambalanga ngoye eziyulise, n'aleka enviiri ze nga si nsanirire, n'abikka ku mutwe gwe, n'alangiriranga nti: ‘Siri mulongoofu, siri mulongoofu!’ Ebbanga lyonna ly'anaamalanga ng'akyali mulwadde, taabenga mulongoofu. Anaabeeranga yekka. Ennyumba ye, eneebeeranga bweru wa lusiisira. “Endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ku kyambalo, oba kya byoya bya ndiga, oba kya lugoye lwa bafuta, oba ku kiwero eky'olugoye olwa bafuta, oba olw'ebyoya by'endiga, oba ku ddiba, oba ku kintu ekikoleddwa mu ddiba, endwadde eyo bw'eba eya kiragalalagala, oba emmyukirivu ku kyambalo oba ku ddiba, oba ku kintu ekyakolebwa mu ddiba, eyo nga ndwadde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona. Kabona anaagikeberanga, n'abaako w'akuumira ekintu ekyo okumala ennaku musanvu. Anaddangamu okukebera endwadde eyo ku lunaku olw'omusanvu. Bw'eneebanga ebunye awalala, nga bye bigenge ebirya. Ekintu ekyo kinaabanga ekitali kirongoofu. Kabona anaakyokyanga mu muliro, kubanga ebyo bye bigenge ebirya. Biteekwa okuzikirizibwa. “Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde tebunye mu kintu, anaalagiranga ne bakyoza, ne kiterekebwa okumala ennaku endala musanvu. Awo anaakikeberanga. Endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, ne bw'eneebanga tebunye, ekyo tekiibenga kirongoofu. Munaayokyanga ekintu ekyo, okukuubuuka oba kuli munda oba kungulu. Naye kabona bw'anaddangamu okukikebera, endwadde n'eterabika nnyo, anaagiyuzanga mu kyambalo oba mu ddiba. Endwadde bw'eneddangamu okulabika, nga ndwadde ya bigenge. Olwo nnannyini kintu ekyo anaakyokyanga. Bw'anaakyozanga, ebbala ne liggwaamu, anaddangamu n'akyoza, ne kibalibwa nga kirongoofu. “Eryo lye tteeka ly'ebigenge mu kyambalo oba kya bafuta, oba kya byoya bya ndiga, oba mu kintu kyonna ekyakolebwa mu ddiba, erinaagobererwanga okulangirira ekirongoofu n'ekitali kirongoofu.” Mukama n'agamba Musa nti: “Lino lye tteeka erinaagobererwanga mu kutukuza awonyezeddwa endwadde y'ebigenge. Ku lunaku lw'anaalangirirwangako nti mulongoofu, anaaleetebwanga eri kabona, kabona n'amufulumya olusiisira,n'amukebera. Endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ewonye, kabona oyo anaalagiranga okuleeta ebinyonyi bibiri ebiramu era ebirongoofu, n'omuti omwerezi, n'ekiwuzi ky'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu. Awo kabona anaalagiranga okuttira ekimu ku binyonyi ebyo mu kibya eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. Anaddiranga ekinyonyi ekiramu, awamu n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu, n'abinnyika mu musaayi gw'ekinyonyi ekittiddwa. “Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo agenda okutukuzibwako endwadde y'ebigenge, n'alyoka amulangirira nti mulongoofu. N'ata ekinyonyi ekiramu, ne kibuukira mu bbanga mu ttale. Omuntu oyo agenda okutukuzibwa anaayozanga ebyambalo bye, n'amwako enviiri ze zonna, n'anaaba, olwo n'abalibwa nga mulongoofu, n'alyoka ayingira mu lusiisira. Kyokka anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye. Ku lunaku olw'omusanvu nate anaamwangako enviiri ze zonna, n'ekirevu n'ebisige, n'obwoya bwonna ku mubiri gwe. Era anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'abalibwa nti mulongoofu. “Ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga abaana b'endiga babiri aba sseddume, n'endiga enduusi emu ey'omwaka ogumu, zonna nga teziriiko kamogo, ne kilo ssatu ez'obuwunga bw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo gw'ebibala by'emizayiti, n'aleeta n'ekimu ekyokusatu ekya lita y'omuzigo gw'ebibala by'emizayiti. Kabona anaateekanga omuntu oyo n'ebintu ebyo mu maaso ga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Awo kabona anaddiranga emu ku ndiga ento eza sseddume, awamu n'ekimu ekyokusatu ekya lita y'omuzigo ogw'emizayiti, n'abiwaayo ng'omutango, n'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Awo anattiranga endiga eyo ento mu Kifo Ekitukuvu awattirwa ensolo ez'ebiweebwayo olw'ekibi, n'ez'ebiweebwayo ebyokebwa. Anaakolanga bw'atyo kubanga ekiweebwayo olw'omutango, okufaanana ng'ekiweebwayo olw'ekibi, kiba kya kabona era kitukuvu nnyo. “Kabona anaatoolanga ku musaayi gw'ekiweebwayo ng'omutango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekya ddyo, eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Kabona anaatoolanga ku muzigo ogw'ebibala by'emizayiti, n'agufuka mu kibatu ekikye kyennyini ekya kkono, n'annyika olunwe lwe olwa ddyo mu muzigo ogwo oguli mu kibatu kye ekya kkono, n'agumansira emirundi musanvu awo mu maaso ga Mukama. Anaatoolanga ku muzigo ogusigaddewo mu kibatu kye, ne ku musaayi gw'ekiweebwayo ng'omutango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Omuzigo ogusigadde mu kibatu kye, anaaguteekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Mu ngeri eyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama. “Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'addaabiriza olw'oyo agenda okuggyibwako obutali bulongoofu. Oluvannyuma anattanga ensolo ey'ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ku alutaari wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'omuntu oyo, omuntu oyo n'aba mulongoofu. “Bw'anaabanga omwavu atasobola kufuna byenkana awo, anaaleetanga omwana gw'endiga ogwa sseddume gube ogw'omutango. Gunaabanga ekiweebwayo eri Mukama nga kiwuubibwa, ekitwalibwa kabona. Anaaleetanga kilo emu ey'obuwunga bw'eŋŋaano, obutabuddwamu omuzigo gw'ebibala by'emizayiti. Era anaaleetanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri. Ejjiba erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa. Ku lunaku olw'omunaana olw'okutukuzibwa kwe, anaagaleetanga eri kabona, mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. “Kabona anaddiranga omwana gw'endiga oguweebwayo olw'ekibi, n'omuzigo ogw'ebibala by'emizayiti, n'abiwaayo eri Mukama ng'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa, ekitwalibwa kabona. Anattanga omwana gw'endiga ogwo, n'atoola ku musaayi gwagwo n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono ogwa ddyo ne ku kigere ekisajja ekya ddyo eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Awo kabona anaafukanga ku muzigo mu kibatu ekikye kyennyini ekya kkono, n'agumansira n'olunwe lwe olwa ddyo emirundi musanvu awo mu maaso ga Mukama. Anaatoolanga ku muzigo ogwo, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'oku mukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Omuzigo ogusigadde mu kibatu kye anaaguteekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu, okuddaabiriza ku lulwe mu maaso ga Mukama. Awo anaawangayo emu ku njiibwa, oba erimu ku mayiba amato, oli bw'aba nga g'asobodde okufuna, ne liba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala ne liba ekiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Eryo lye tteeka ku oyo alina endwadde y'ebigenge, atasobola kufuna byetaagibwa ebya bulijjo mu kutukuzibwa kwe.” Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Bwe muliba nga mutuuse mu nsi y'e Kanaani, gye mbawa mmwe okuba obutaka bwammwe, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba mu nsi eyo ebaweebwa, nnannyini nnyumba eyo anajjanga n'abuulira kabona nti: ‘Ennyumba yange enfaananira okubaamu endwadde y'ebigenge.’ Kabona nga tannayingira kukebera ndwadde ya bigenge, anaalagiranga okufulumya buli kintu mu nnyumba eyo, bireme kufuuka ebitali birongoofu. Olwo kabona anaayingiranga ennyumba, okukebera endwadde y'ebigenge. Bwe wanaabangawo amabala aga kiragalalagala, oba amamyukirivu, agalabika nga galya ekisenge, kabona anaavanga mu nnyumba, n'agiggala okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw'omusanvu anaakomangawo n'akebera. Endwadde bw'eneebanga ebunye, anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu. Era anaalagiranga ne bakokota ennyumba munda enjuyi zonna, langi ekolokoteddwamu n'esuulibwa ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu. Ne baddira amayinja amalala ne bagazimba mu kifo kya gali agaggyiddwamu, era ne baddira langi endala ne bagisiiga ku bisenge. “Awo endwadde bw'eddangamu okufuutuuka mu nnyumba ng'amayinja gamaze okuggyibwamu, nga n'ebisenge bikolokoteddwa ne bisiigibwa langi, kabona anaayingiranga n'akebera. Endwadde bw'eneebanga ebunye, ebyo nga bye bigenge ebirya ennyumba, era teebenga nnongoofu. Eneeyabizibwanga, amayinja gaayo n'emiti ne langi yaayo yonna binaatwalibwanga ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu. Era buli anaayingiranga mu nnyumba eyo ng'ekyaggaliddwawo, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Buli anaasulanga mu nnyumba eyo oba buli anaaliirangamu, anaayozanga ebyambalo bye. “Kabona bw'anaayingiranga n'alaba ng'endwadde tezzeemu kulabika ng'ennyumba emaze okusiigibwako langi, anaalangiriranga nti ennyumba eyo nnongoofu, kubanga endwadde ewonye. Okutukuza ennyumba, anaakozesanga ebinyonyi bibiri, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu. Anattiranga ekimu ku binyonyi ebyo mu kibya eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. Anaddiranga omuti omwerezi, n'akati akayitibwa yisopu, n'ekinyonyi ekiramu, n'abinnyika mu musaayi gw'ekinyonyi ekittiddwa, ne mu mazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. Anaamansiranga ennyumba emirundi musanvu. Bw'atyo anaatukuzanga ennyumba ng'akozesa omusaayi gw'ekinyonyi, n'amazzi amalungi, n'omuti omwerezi, n'akati akayitibwa yisopu, era n'olugoye olumyufu. Anaatanga ekinyonyi ekiramu ne kibuuka mu bbanga okuva mu kibuga, ne kigenda mu ttale. Bw'atyo bw'anaatukuzanga ennyumba n'eba nnongoofu. “Ago ge mateeka ku ndwadde zonna ez'ebigenge, Ge ganaagobererwanga okusalawo ku birongoofu, ne ku bitali birongoofu.” Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Mwogere n'Abayisirayeli mubategeeze nti buli musajja alwadde enziku, taabenga mulongoofu olw'enziku ye gy'alwadde, oba ng'emuleetera okutonnya, omusulo oba okuzibikira. Alwadde enziku, buli kitanda ky'aneebakangako, na buli kintu ky'anaatuulangako, tekiibenga kirongoofu. Era buli anaakoonanga ku kitanda ky'ow'enziku, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaatuulanga ku kintu ow'enziku ky'abadde atuddeko, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakoonanga ku w'enziku, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ow'enziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu, omulongoofu anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Amatandiiko ow'enziku g'anaatuulangako okwebagala ensolo, tegaabenga malongoofu. Buli akwata ku kintu ow'enziku ky'abadde atuddeko, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ow'enziku bw'anaakwatanga ku muntu nga tamaze kunaaba mu ngalo, akwatiddwako anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ekintu eky'ebbumba ow'enziku ky'anaakwatangako, kinaayasibwanga. Na buli kintu kya muti ky'anaakwatangako, kinaayozebwanga mu mazzi. “Ow'enziku bw'anaawonanga enziku ye, anaalindangako ennaku musanvu okwetukuza, n'alyoka ayoza ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu. Ku lunaku olw'omunaana, anaatwalanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'agawa kabona. Kabona anaagawangayo: erimu nga lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala nga lya kiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama, olw'enziku ye gy'alwadde. “Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Buli kintu kya lugoye oba kya ddiba amazzi ag'obusajja kwe gatonnye, kinaayozebwanga, ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi. Era omusajja n'omukazi nga bamaze okwebaka bombi, banaanaabanga mu mazzi, ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi. “Omukazi bw'anaabeeranga mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu. Era buli anaamukoonangako, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Buli kintu ky'aneebakangako, oba ky'anaatuulangako mu nnaku z'ebiseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, tekiibenga kirongoofu. Omusajja aneebakanga naye mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, era buli kitanda kye yeebakako, tekiibenga kirongoofu. “Omukazi bw'anaavangamu omusaayi ennaku ennyingi nga tali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, oba ng'ayisizza mu biseera bye ebya bulijjo, anaasigalanga si mulongoofu ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi, nga bw'aba mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi. Buli kitanda kye yeebakako, ne buli kintu ky'atuulako mu kiseera ekyo, tekiibenga kirongoofu. Ne buli anaabikoonangako, taabenga mulongoofu, era anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Omukazi oyo bw'anaakomanga okuvaamu omusaayi, anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka aba omulongoofu. Ku lunaku olw'omunaana, anaatwalanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Kabona anaagawangayo: erimu nga lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala nga lya kiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama, olw'okuvaamu omusaayi ogwamufuula atali mulongoofu. “Bwe mutyo bwe munaalabulanga Abayisirayeli ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu olw'okujaajaamya Eweema yange eri wakati mu bo. “Ago ge mateeka ku musajja alwadde enziku, oba avaamu amazzi ag'obusajja, ne ku mukazi mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, ne ku musajja eyeebaka n'omukazi atali mulongoofu.” Mukama n'ayogera ne Musa, nga Arooni amaze okufiirwa batabani be bombi, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa. N'agamba nti: “Gamba Arooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde munda w'olutimbe mu Kifo Ekitukuvu, mu maaso g'entebe ey'obusaasizi eri ku ssanduuko, aleme kufa, kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe eyo ey'obusaasizi. Arooni anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu ng'alina ente ennume envubuka ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa. Anaamalanga kunaaba mu mazzi, n'ayambala ebyambalo ebitukuvu eby'engoye ennungi: ekkanzu n'empale, olukoba n'enkuufiira. “Ekibiina ky'Abayisirayeli kinaawanga Arooni embuzi ennume bbiri ez'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu ey'ekiweebwayo ekyokebwa. Anaawangayo ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi eyiye ku bubwe, n'addaabiriza ku lulwe ne ku lw'ab'ennyumba ye. Awo anaatwalanga embuzi zombi ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Anaazikubiranga akalulu okulondako eneeba eya Mukama, n'eyo eneeba eya Azazeeli. Arooni anaawangayo embuzi erondeddwawo akalulu okuba eya Mukama, n'agitta ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Naye embuzi erondeddwawo akalulu okuba eya Azazeeli, eneeteebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, olw'okuddaabiriza, olwo n'eryoka esindiikirizibwa eri Azazeeli mu ddungu. “Arooni bw'anaawangayo ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'ab'ennyumba ye, anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro, g'aggye ku alutaari mu maaso ga Mukama, n'obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, bwa mbatu bbiri, n'abireeta munda w'olutimbe. Awo anaateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane ne gubikka entebe ey'obusaasizi n'atagiraba, aleme okufa. Anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ludda lw'ebuvanjuba olw'entebe ey'obusaasizi, era n'agumansira mu maaso g'entebe eyo emirundi musanvu. “Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'olutimbe, n'agumansira ku ntebe ey'obusaasizi, ne mu maaso gaayo, nga bwe yakoze ku musaayi gw'ente ennume. Bw'atyo anaddaabirizanga olw'Ekifo Ekitukuvu, okukiggyako obutali bulongoofu bw'Abayisirayeli, n'ensobi zaabwe, n'ebibi byabwe byonna. Era bw'atyo bw'anaakolanga ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ebeera nabo mu makkati gaabwe abatali balongoofu. Temuubenga muntu mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, nga Arooni ayingira mu Kifo Ekitukuvu okuddaabiriza, okutuusa lw'anaafulumanga ng'amaze okuddaabiriza ku lulwe, ne ku lw'ab'ennyumba ye, ne ku lw'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli. Olwo anaafulumanga n'agenda ku alutaari eri mu maaso ga Mukama, n'addaabiriza ku lwayo. N'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyo, ku nsonda zaayo zonna. N'agimansira omusaayi n'olunwe lwe emirundi musanvu, n'agirongoosa okugiggyako obutali bulongoofu bw'Abayisirayeli, n'agitukuza. “Arooni bw'anaamalirizanga okuddaabiriza olw'Ekifo Ekitukuvu n'Eweema yonna ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne alutaari, anaayanjulangayo embuzi ennamu. Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi eyo ennamu, n'agyatulirako ebyonoono n'ebibi by'Abayisirayeli, n'obujeemu bwabwe bwonna, n'abizza ku mutwe gwayo, n'agisindiikiriza mu ddungu ng'etwalibwa omuntu eyategekeddwa. Embuzi eyo eneetwalanga ebibi byabwe byonna, n'egenda nabyo mu nsi eteriimu bantu. Oyo agitwala anaagiteeranga mu ddungu. “Awo Arooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ayambulamu ebyambalo ebyeru bye yayambadde okuyingira mu Kifo Ekitukuvu, n'abireka omwo. Anaanaabiranga omubiri mu Kifo Ekitukuvu, n'ayambala engoye ze, n'afuluma, n'awaayo ekitambiro ekyokebwa ekikye, n'ekitambiro ekyokebwa okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'abantu. Amasavu g'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku alutaari. Oyo asindiikirizza embuzi mu ddungu eri Azazeeli, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'alyoka ayingira mu lusiisira. Ente ennume n'embuzi ez'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwazo oguyingiziddwa mu Kifo Ekitukuvu okuddaabiriza, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira, ne zookebwa. Amaliba, n'ennyama n'ebyenda byazo, binaayokebwanga. Oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri mu mazzi, olwo n'alyoka adda mu lusiisira. “Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna. Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, Abayisirayeli n'abagwira abali mu bo, baneebonerezanga, era tebaakolenga mulimu na gumu. Ku lunaku olwo, wanaabangawo okuddaabiriza ku lwammwe olw'okubatukuza, muggyibweko ebibi byammwe byonna, mube balongoofu mu maaso ga Mukama. Olwo lunaabanga Sabbaato yammwe ya kuwummulira ddala, era muneebonerezanga. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna. Kabona eyafukibwako omuzigo n'ayawulibwa okuba kabona mu kifo kya kitaawe, ye anaddaabirizanga ng'ayambadde ebyambalo ebyeru, ebitukuvu. Anaddaabirizanga olw'Ekifo Ekitukuvu, n'olw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'olw'alutaari, era anaddaabirizanga olwa bakabona, n'olw'abantu bonna ab'omu kibiina. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, wabeerengawo okuddaabiriza ku lw'Abayisirayeli omulundi gumu buli mwaka, olw'ebibi byabwe.” Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. Mukama n'agamba Musa nti: “Yogera ne Arooni ne batabani be, n'Abayisirayeli bonna, obagambe nti: ‘Kino Mukama ky'alagidde: Omuyisirayeli anaatambiranga ente, oba endiga, oba embuzi mu lusiisira oba ebweru waalwo, n'atagireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okugiwaayo ng'ekitone eri Mukama mu maaso g'ekifo Mukama w'abeera, anaavunaanibwanga omusango ogw'okuyiwa omusaayi, era anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. Ekigendererwa mu tteeka lino, be Bayisirayeli okuleetanga eri Mukama ebitambiro byabwe bye babadde battira mu ttale mu bbanga, babireetenga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, babitte, bibe ebitambiro ebiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana. Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku alutaari ya Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ayokya amasavu, ne galeeta evvumbe erisanyusa Mukama, Abayisirayeli balemenga kwongera kuba batali beesigwa eri Mukama, nga bawaayo ebitambiro byabwe eri balubaale ab'embuzi ennume. Abayisirayeli banaakuumanga etteeka lino ennaku zonna.’ “Era obagambe nti: ‘Omuyisirayeli, oba omugwira yenna abeera mu Bayisirayeli, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, n'atakireeta eri Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ “Omuyisirayeli, oba omugwira yenna abeera mu Bayisirayeli bw'anaalyanga ku musaayi, nnaamutunuulizanga bukambwe, era nnaabanga sikyamubalira mu bantu bange. Obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi. Kyennava ngubawa mmwe guddaabirizenga ku lw'obulamu ku alutaari, kubanga omusaayi gwe guddaabiriza ku lw'obulamu. Kyenva ŋŋamba Abayisirayeli nti: ‘Tewaabenga n'omu ku mmwe alya omusaayi, era n'omugwira abeera mu mmwe, taalyenga musaayi.’ “Omuyisirayeli, oba omugwira abeera mu Bayisirayeli, anaayigganga ensolo, oba ekinyonyi ekikkirizibwa okuliibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo, n'agubikkako ettaka, kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi. Kyennava ŋŋamba Abayisirayeli nti: ‘Temuulyenga ku musaayi gwa kintu na kimu ekirina omubiri, kubanga obulamu bwakyo gwe musaayi gwakyo. Buli anaagulyangako, anaazikirizibwanga.’ “Buli muntu, oba nzaalwa, oba mugwira, mu Bayisirayeli, anaalyanga ensolo efudde yokka, oba ettiddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Naye bw'ataayozenga byambalo bye, era n'atanaaba mubiri, anaasigalanga si mulongoofu.” Mukama n'agamba Musa nti: “Yogera n'Abayisirayeli obagambe nti Nze Mukama, Katonda wammwe. Temuugobererenga mpisa za bantu b'e Misiri gye mwabeeranga, wadde ez'abantu b'omu nsi y'e Kanaani, gye mbatwalamu. Temuutambulirenga ku mateeka gaabwe. Muwulirenga amateeka gange, era mukolenga bye mbalagira. Nze Mukama Katonda wammwe. Mugobererenga amateeka n'ebiragiro bye mbawa. Anaabituukirizanga, anaabanga mulamu. Nze Mukama. “Tewaabenga ku mmwe asemberera wa buko yenna okwebaka naye. Toswazanga kitaawo nga weebaka ne nnyoko. Nnyoko teweebakanga naye. Toswazanga kitaawo ng'obaako n'omu ku bakazi be abalala gwe weebaka naye. Teweebakanga na mwannyoko, omwana wa kitaawo, oba owa nnyoko, k'abe nga yakulira wamu naawe awaka, oba nga yakulira walala. Teweebakanga na mwana wa mutabani wo, oba owa muwala wo, kubanga ekyo kikuswaza. Teweebakanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe, kubanga naye mwannyoko. Teweebakanga na ssenga wo, kubanga mwannyina kitaawo. Teweebakanga na nnyoko omuto, kubanga muganda wa nnyoko. Teweebakanga na muka kitaawo omuto. Oyo naye aba nnyoko. Teweebakanga na muka mwana wo, era teweebakanga na muka muganda wo. Teweebakanga na mukazi, n'ogattako muwala we, oba muwala wa mutabani we, oba owa muwala we. Ekyo kivve, kubanga abo ba buko. Totwalanga muganda wa mukazi wo kumufuula muggya we, ne weebaka naye, nga mukazi wo akyali mulamu. “Teweebakanga na mukazi mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, kubanga abalibwa obutaba mulongoofu. Teweebakanga na muka musajja. Ekyo kikufuula atali mulongoofu. Towangayo n'omu ku baana bo kuwongerwa lubaale Moleki, n'ovumaganya erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama. Teweebakenga na musajja munno nga bwe beebaka n'abakazi. Ekyo kyenyinyalwa. Omusajja oba omukazi teyeebakenga na nsolo. Obugwenyufu obwo bumufuula atali mulongoofu. “Temweyonoonanga nga mubaako n'ekimu ku ebyo kye mukola. Ebyo byonna bye byayonoona ab'amawanga ge ngoba mu nsi eno okuleetamu mmwe. Ebikolwa byabwe byayonoona ensi eno, kyenva ngibonereza n'eggweeramu ddala abantu abaagirimu. muleme kugobwa mu nsi eno, ng'abantu abaasooka mmwe okugibeeramu bwe baagyonoona ne bagobwamu. Buli anaabangako ky'akola ku byenyinyalwa ebyo, anaabanga takyabalirwa mu bantu bange. “Kale mukuumenga bye mbakuutira, mulemenga kugoberera mpisa ezo ezeenyinyalwa, ezaagobererwanga abo abaasooka mmwe okubeera mu nsi eno, era mulemenga kweyonoona nga mukola ebyo. Nze Mukama Katonda wammwe.” Mukama n'agamba Musa ayogere n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, abagambe nti: “Mubenga batuukirivu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutuukirivu. Buli omu mu mmwe assengamu kitaawe ne nnyina ekitiibwa, era akuumenga Sabbaato nga bwe nalagira. Nze Mukama Katonda wammwe. “Temunvengako kusinza bintu bitaliimu, era temwekolerenga balubaale mu kyuma kisaanuuse kubasinza. Nze Mukama Katonda wammwe. “Era bwe munaawangayo gye ndi, Nze Mukama, ekitambiro eky'ebiweebwayo eby'okutabagana, munaakiwangayo mu ngeri esaanidde, kiryoke kikkirizibwe. Kinaaliirwanga ku lunaku olwo lwe munaakiweerangayo, ne ku luddirira. Kyonna ekinaasigalangawo okutuusa ku lunaku olwokusatu, kinaayokebwanga omuliro, kubanga olwo kinaabanga kifuuse ekitali kirongoofu, era bwe kinaaliibwanga ku lunaku olwo olwokusatu, sikkirizenga kitambiro ekyo. Buli anaakiryangako taabenga mulongoofu, olw'okujaajaamya ekintu ekitukuvu ekya Mukama, era omuntu oyo anaabanga takyabalirwa mu bantu bange. “Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temuumalirengayo ddala ebisembayo ku nsalosalo z'ennimiro zammwe, era temuddengayo mabega mu nnimiro zammwe kukuŋŋaanya birimba ebiba bisigalidde, wadde okulonderera ebiba bikunkumuse. Mubirekeranga abaavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wammwe. “Temubbenga, temuulyazaamaanyenga, era temuulimbaganenga. Temuulayirirenga bwereere linnya lyange kulivumaganya. Nze Mukama Katonda wammwe. “Temuuyiikirizenga bannammwe, wadde okunyaga ebyabwe. Empeera y'omukozi gw'okozesezza, toogiremerenga wadde ekiro ekimu kyokka. Tookolimirenga kiggala, era ne muzibe toomuteekerengawo muziziko kwekoonako, naye onootyanga nze, Mukama Katonda wo. “Musalenga emisango mu mazima ne mu bwenkanya. Temwekubiirenga ku ludda lwa mwavu, era temuutyenga mugagga. Naye musalenga ensonga mu bwesimbu. Toosaasaanyenga ŋŋambo mu bantu bo, era tooteekenga mu kabi bulamu bwa muntu munno. Nze Mukama. “Tookyawenga munno mu mutima gwo, naye omunenyanga ne biggwa, oleme okumukolako ekibi. Toowoolerenga ggwanga ku muntu n'omu, era toomusibirenga kiruyi. Naye oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini. Nze Mukama. “Mukwatenga ebiragiro byange. Toozaazisenga nsolo zo ezitafaanana mu kika kyazo. Toosigenga mu nnimiro yo nsigo za bika bibiri. Tooyambalenga kyambalo kya ngoye ez'engeri ebbiri ezigattiddwa awamu nga tezifaanana. “Omusajja bw'aneebakanga n'omuzaana ayogerezebwa omusajja omulala, kyokka ono nga tannasasula bintu, era ng'omuzaana taweereddwa ddembe, omusajja oyo n'omuzaana banaabonerezebwanga, naye tebattibwenga, kubanga omuzaana taba wa ddembe. Omusajja oyo anaaleetanga ku mulyango gwa Weema ey'okunsisinkanirangamu, embuzi ennume nga kye kiweebwayo eky'omutango. Kabona anaakozesanga ekiweebwayo ekyo, okuddaabiriza ku lw'omusajja oyo mu maaso ga Mukama, olw'ekibi kye yakola, ne kimusonyiyibwa. “Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanaani ne musimba emiti egy'ebibala egya buli ngeri, ebibala byagyo mulibiyita ebitali birongoofu okumala emyaka esatu. Okumala emyaka egyo esatu, temuubiryengako. Mu mwaka ogwokuna, ebibala byonna biriwongerwa nze Mukama okunneebaza. Naye mu mwaka ogwokutaano, mulirya ku bibala by'ensi eyo. Ebyo bwe mulibituukiriza, mulifuna ekyengera. Nze Mukama Katonda wammwe. “Temuulyenga nnyama ng'ekyalimu omusaayi. Temuukolenga bya bulogo, wadde eby'okulagulwa. Temuukomolenga ku nviiri zammwe, wadde okusala ku birevu byammwe. Temuusalenga misale ku mibiri gyammwe okukungubagira abafu, wadde okweyolako enjola olw'okwewoomya. Nze Mukama. “Temuujaajaamyenga bawala bammwe nga mubawaayo mu bwenzi, ensi ereme kwonooneka na kujjula mpisa mbi. Mukuumenga Sabbaato, era mussengamu ekitiibwa Ekifo kyange Ekitukuvu. Nze Mukama. “Temuugendenga kwebuuza ku basamize, wadde ku balogo. Temuunoonyenga gye bali, muleme kwonooneka. Nze Mukama. “Museguliranga abakaddiye, era mubassangamu ekitiibwa. Era muntyanga nze Mukama Katonda wammwe. “Abagwira ababeera nammwe mu nsi yammwe temuubayisenga bubi. Mubayisenga nga Bayisirayeli bannammwe, era mubaagalenga nga bwe mweyagala mwennyini, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe. “Temuukumpanyenga okukozesa ebipimo ebitali bituufu mu kupima obuwanvu, n'obuzito, n'obungi bw'ebintu. Mukozesenga minzaani entuufu n'ebipimo byonna ebituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Mukwatenga amateeka gange n'ebiragiro byange, era mubituukirizenga. Nze Mukama.” Mukama n'agamba Musa ategeeze Abayisirayeli nti: “Bwe wanaabangawo Omuyisirayeli oba omugwira abeera mu mmwe awaayo ku baana be eri lubaale Moleki, ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja n'afa. Era nange ndyefuulira omuntu oyo ne mmuboola, ne ssongera kumubalira mu bantu bange, kubanga awaddeyo ku baana be eri Moleki, n'ayonoona Ekifo kyange Ekitukuvu, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu. Naye ekibiina ky'abantu bwe kitaafengayo ku ky'akoze, ne kitamutta, Nze nzennyini ndikyukira omuntu oyo n'ab'omu nnyumba ye bonna, n'abo bonna abamwegattako mu butaba beesigwa gye ndi, ne basinza Moleki. Siryongera kubabalira mu bantu bange. “Era omuntu bw'anaagendanga okwebuuza ku basamize, nnaamwefuuliranga, ne ssongera kumubalira mu bantu bange. Kale mwetukuze, mubenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe. Mukuumenga amateeka gange, kubanga nze Mukama abafuula abatukuvu. “Buli akolimira kitaawe oba nnyina, anattibwanga. Ye anaabanga yeereetedde yekka okuttibwa. “Omusajja bw'anaayendanga ku muk'omusajja, abenzi bombi, omusajja n'omukazi, banattibwanga. N'omusajja eyeebaka n'omu ku baka kitaawe, aswaza kitaawe. Bombi, omusajja oyo n'omukazi banattibwanga. Be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa. Omusajja bw'aneebakanga ne muka mwana we, bombi banattibwanga. Banaabanga bakoze kya kivve, nga be beereetedde bokka okuttibwa. Era omusajja bw'aneebakanga ne musajja munne, nga bwe yandyebase n'omukazi, baba bakoze eky'omuzizo. Bombi banattibwanga, nga be beereetedde bokka okuttibwa. Omusajja bw'awasanga omukazi ne nnyina w'omukazi oyo, ekyo kya kivve. Abasatu abo banaayokebwanga omuliro ne bafa. Era temukkirizenga ekibi ng'ekyo okubeera mu mmwe. Omusajja bw'aneebakanga n'ensolo, anattibwanga era ensolo eyo nayo enettibwanga. Omukazi anaasembereranga ensolo ne yeebaka nayo anattibwanga, era ensolo eyo nayo enettibwanga, nga ye, nayo, be beereetedde bokka okuttibwa. “Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe oba owa nnyina, banaabanga bakoze kya buwemu. Banaagobwanga mu kibiina ky'abantu baabwe. Omusajja oyo anaabanga yeebase ne mwannyina, era anaavunaanibwanga olw'ekibi kye. Omusajja bw'aneebakanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaagobwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu. “Teweebakenga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe. Omusajja bw'aneebakanga ne muka kitaawe omuto, oba ne muka kojjaawe, anaabanga aswazizza kitaawe omuto oba kojjaawe, era ye n'omukazi oyo banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe. Balifa tebafunye baana. Era omusajja bw'anaawasanga muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we. Tebaliba na baana. “Mukuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange byonna, ensi y'e Kanaani gye ŋŋenda okubayingizaamu okubeerangamu ereme kubagaana. Temuugobererenga mpisa za bantu abo be ngobamu okuleetamu mmwe. Kubanga baakolanga ebyo byonna, kyennava mbakyawa. Naye mmwe nabasuubiza okubawa ensi eno engagga era engimu, era ndigibawa n'eba yammwe. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga amalala. Kale mwawulenga ensolo n'ebinyonyi ebirongoofu n'ebitali birongoofu. Temwejaajaamyenga nga mulya ensolo n'ebinyonyi, wadde ekintu ekirala kyonna ku nsi, ebitali birongoofu. Munaabeeranga batukuvu, era nga muli bange nzekka, kubanga nabaawula mu mawanga amalala, mulyoke mubeerenga bange nzekka. “Omusajja oba omukazi omusamize, oba omulogo, anattibwanga. Anaakubibwanga amayinja n'attibwa. Ye anaabanga yeereetedde yekka okuttibwa.” Mukama n'agamba Musa nti: “Yogera ne bakabona, batabani ba Arooni, obagambe nti tewaabengawo n'omu ku bo aneefuulanga atali mulongoofu nga yeetaba mu mikolo egibaawo mu kufiirwa ab'eŋŋanda ze, okuggyako abo abamuli okumpi mu luganda: nnyina ne kitaawe, mutabani we ne muwala we, ne muganda we, oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye. Teyeefuulenga atali mulongoofu olw'abafudde ku buko. “Bakabona tebaamwengako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okukomola ku birevu byabwe, era tebaasalenga misale ku mibiri gyabwe okulaga nti banakuwadde. Banaabeeranga batukuvu eri Katonda waabwe, era tebaavumaganyenga linnya lya Katonda waabwe, kubanga bawaayo eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa, by'ebyokulya ebya Katonda waabwe. Kyebanaavanga baba abatukuvu. “Kabona taawasenga mukazi eyakolako obwamalaaya, oba omukazi atali mbeerera, wadde eyagobebwa bba, kubanga kabona yayawulirwa Katonda we. Kale munaamwawuliranga Katonda, kubanga awaayo eri Katonda wammwe ekitone eky'ebyokulya. Munaamubalanga nga mutukuvu, kubanga nze Mukama abatukuza mmwe, ndi mutukuvu. Era muwala wa kabona bwe yeeyonoona nga yeefuula malaaya, aswaza kitaawe. Anaayokebwanga omuliro n'afa. “Ssaabakabona yafukibwako omuzigo ku mutwe gwe, n'atukuzibwa okwambalanga ebyambalo eby'obwakabona. N'olwekyo taalekenga nviiri ze nga si nsanirire, era taayuzenga byambalo bye, okulaga nti anakuwadde. Anaawasanga omukazi akyali embeerera, sso si nnamwandu, oba omukazi eyaliko malaaya, wadde eyagobwa bba. Omukazi embeerera ow'omu bantu be, gw'anaawasanga, aleme kuvumaganya baana be mu bantu be, kubanga nze Mukama amutukuza.” Mukama n'agamba Musa ategeeze Arooni nti: “Buli wa mu zzadde lyo mu mirembe gyonna anaabangako akamogo, taasemberenga okuwaayo ekitone eky'ebyokulya ekya Katonda we. Buli aliko akamogo konna, taasemberenga kuweereza: muzibe, oba awenyera oba eyalemala, oba aliko awakyamu, wadde eyamenyeka okugulu oba omukono; ow'ebbango, nnakalanga, oba aliko akamogo ku liiso lye, oba alina endwadde ey'olususu, oba omulaawe. Tewaabengawo n'omu mu zadde lya Arooni kabona, aliko kamogo anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa, n'ekitone eky'ebyokulya. Ow'engeri eyo, anaalyanga ku kitone ekya Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, ne ku birala ebitukuvu. Kyokka olw'okuba ng'aliko akamogo, taayingirenga awali olutimbe olutukuvu, era taasembererenga alutaari, alemenga kuvumaganya ebitukuvu, kubanga nze Mukama abitukuza.” Awo Musa n'ategeeza Arooni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna bw'atyo. Mukama n'agamba Musa nti: “Tegeeza Arooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu, Abayisirayeli bye bantonera, balemenga okuvumaganya erinnya lyange ettukuvu. Nze Mukama. Bategeeze nti mu mirembe gyonna, buli wa mu zadde lyabwe atali mulongoofu anaasembereranga ebitukuvu Abayisirayeli bye bantonera, oyo taddengayo kujja mu maaso gange. Nze Mukama. “Tewaabengawo n'omu wa mu zadde lya Arooni alwadde ebigenge oba alina enziku, anaalyanga ku bintu ebitukuvu, okutuusa lw'anaabeeranga omulongoofu. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu, bw'anaakoonanga ku kintu ekifuuse ekitali kirongoofu olw'okukoona ku kifudde, oba ku musajja avuddemu amazzi ag'obusajja, oba bw'anaakoonanga ku kyewalula ekimufuula atali mulongoofu, oba ku muntu amufuula atali mulongoofu. Buli kabona afuuka atali mulongoofu, asigala si mulongoofu okutuusa akawungeezi, era taalyenga ku bitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri. Enjuba ng'egudde, anaabeeranga mulongoofu. Olwo anaayinzanga okulya ku bintu ebitukuvu, kubanga ebyo ye mmere ye. Taalyenga nnyama ya nsolo efudde yokka, oba ettiddwa ensolo enkambwe, alemenga kwefuula atali mulongoofu. Nze Mukama. “Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga kwonoona ne bafa olw'okubinyoomoola. Nze Mukama abafuula abatukuvu. “Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu. Wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako. Naye omuddu, kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abo abazaalirwa mu maka ge, abo banaalyanga ku mmere ya kabona. Muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omusajja atali kabona, taalyenga ku bitone ebitukuvu. Naye muwala wa kabona nga nnamwandu oba ng'agobeddwa bba, nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Naye atali wa mu lulyo lwa bakabona, taagiryengako. “Omuntu atali wa lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'ayongeramu n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano. Kabona taajaajaamyenga bitukuvu, Abayisirayeli bye bawaayo eri Mukama, ng'akkiriza atali kabona okubiryako, n'amuleetera omusango n'ekibonerezo. Nze Mukama abitukuza.” Mukama n'agamba Musa nti: “Tegeeza Arooni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna nti Omuyisirayeli, oba omugwira ali mu Yisirayeli, bw'anaaleetanga eri Mukama ekitone kye ekyokebwa kye yeeyama, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, okukkirizibwa, kinaabanga nnume ey'ente, oba ey'endiga, oba ey'embuzi, eteriiko kamogo. Temuuwengayo kintu na kimu ekiriko akamogo, kubanga ekitone kyammwe ekyo tekikkirizibwenga. Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ekitambiro eky'okutabagana okutuukiriza obweyamo, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, ensolo eneebanga eyo eteriiko kamogo, n'eryoka ekkirizibwa. Temuuwengayo eri Mukama, ensolo eyaziba amaaso, oba emmenyefu, oba ennema, oba eriko amabwa, oba endwadde y'olususu. Ensolo ez'engeri eyo temuuziwengayo ku alutaari okuba ekiweebwayo ekyokebwa. Ente oba endiga eriko ekitundu ekitali kitereevu, oba ekibulako ku bitundu byayo, eyo oyinza okugiwaayo ng'ekitone ky'owaayo nga weeyagalidde, naye tekkirizibwa mu kutuukiriza obweyamo. Temuuwengayo eri Mukama, ensolo eyabetentebwa, oba eyanyigibwa, oba eyayatika, oba eyasalibwako ebibeere byayo. Ekyo temuukikolenga mu nsi yammwe. “Ensolo ze muggye mu bagwira, temuuziwengayo eri Katonda wammwe ng'ekitone eky'ebyokulya. Ezo zibalibwa ng'eziriko akamogo, era tezikkirizibwenga.” Mukama n'agamba Musa nti: “Ente, oba endiga, oba embuzi, bw'eneezaalibwanga, eneerekebwanga n'eyonka nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw'omunaana n'okusingawo, enekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa. Temuttenga nte, oba ndiga n'omwana gwayo ku lunaku lumu. Bwe muwangayo ekitambiro eri Mukama okumwebaza, munaakiwangayo nga mutuukiriza amateeka, mulyoke mukkirizibwe. Mukiryenga ku lunaku olwo lwennyini. Temuukirekengawo okutuusa enkeera. Nze Mukama. “Mukuumenga ebiragiro byange, mubituukirizenga. Nze Mukama. Temuuvumaganyenga linnya lyange ettukuvu, naye njagala Abayisirayeli bonna baatulenga nga bwe ndi omutukuvu. Nze Mukama abafuula abatukuvu, era eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe. Nze Mukama.” Mukama n'agamba Musa ategeeze Abayisirayeli nti: “Ennaku zino ze nnaku za Mukama enkulu, ze munaalangiriranga okukuŋŋaanirangako okusinza. “Ennaku ziri mukaaga ezinaakolerwangako emirimu, naye olunaku olw'omusanvu, ye Sabbaato, lunaku lwa kuwummula. Ku olwo temuukolenga mirimu, naye munaakuŋŋaananga okusinza. Olwa Sabbaato, lunaku lwa Mukama yonna yonna gye mubeera. “Zino ze nnaku enkulu eza Mukama ze munaalangiriranga mu biseera byazo ebituufu. Olw'Okuyitako kwa Mukama, lutandika akawungeezi k'olunaku olw'ekkumi n'ennya, olw'omwezi ogw'olubereberye. “Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa etandika ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo. Okumala ennaku musanvu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olubereberye olw'ennaku ezo omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza. Temuukolenga mulimu na gumu ogw'emikono. Ennaku ezo omusanvu munaawangayo eri Mukama ekitone ekyokebwa. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza. Temuukolenga mirimu gya mikono.” Mukama n'agamba Musa ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi Mukama gy'abawa, ne mukungula eŋŋaano, ekinywa ekisooka, mukitwalanga wa kabona. Anaakiwangayo ng'akiwuuba mu maaso ga Mukama, ekitone kyammwe ekyo ne kikkirizibwa. Kabona anaakiwangayo ku lunaku oluddirira Sabbaato. Era ku lunaku lwe munaaweerangayo ekinywa ky'eŋŋaano, munaawangayo eri Mukama ekitambiro ekyokebwa, eky'omwana gw'endiga omulume, ogutaliiko kamogo, ogw'omwaka ogumu. Awamu n'ekitone ekyo, munaawangayo kilo bbiri ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, ng'ekitone eky'ebyokulya. Akawoowo k'ekitone ekyo, kasanyusa Mukama. Era awamu nakyo, munaawangayo ekitone ekya lita emu ey'omwenge ogw'emizabbibu. Temuulyenga ku ŋŋaano mpya, oba nga ya birimba bibisi, oba nga nsiike, oba ng'ekoleddwamu omugaati, okutuusa nga mumaze okuleeta ekitone kya Katonda wammwe. Etteeka lino linaakuumibwanga mu b'ezzadde lyammwe bonna, ennaku zonna. “Munaabalanga wiiki musanvu enzijuvu okuva ku lunaku oluddirira Sabbaato gye muleeteddeko ekinywa kyammwe eky'eŋŋaano okukiwaayo eri Mukama. Ku lunaku olwokutaano oluddirira Sabbaato ey'omusanvu, munaawangayo eri Mukama ekinywa ekirala eky'eŋŋaano. Buli maka ganaaleetanga emigaati ebiri eri Mukama, ng'ekitone ekiwuubibwa. Buli mugaati gunaakolebwanga mu kilo bbiri ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi eziteekeddwamu ekizimbulukusa, emigaati egyo ne mugiwaayo eri Mukama ng'ekitone eky'eŋŋaano gye munaabanga musoose okukungula. Awamu n'emigaati egyo, munaawangayo endiga musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, n'ente ennume ento emu, n'endiga ennume enkulu bbiri. Zonna teziibengako kamogo. Zinaaweebwangayo eri Mukama, ng'ekiweebwayo ekyokebwa, wamu n'ekitone eky'ebyokulya n'eky'ebyokunywa. Akawoowo ak'ekitone ekyo kasanyusa Mukama. Era munaawangayo embuzi ennume emu, ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ento bbiri, ez'omwaka ogumu ogumu, ng'ekiweebwayo eky'okutabagana. Kabona anaawangayo eri Mukama emigaati wamu n'endiga, ng'ekitone ekiwuubibwa, ekitwalibwa bakabona. Ebiweebwayo ebyo bitukuvu. Ku lunaku olwo munaalangiriranga, ne mukuŋŋaana okusinza. Temuulukolerengako mirimu gya mikono. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, yonna gye munaabeeranga. “Bwe munaakungulanga bye mulimye mu nsi yammwe, temuukungulirenga ddala kumalayo na bya ku nsalosalo za nnimiro zammwe, era temuddenga mabega kulonderera ebyo ebisigalidde. Mubirekeranga abaavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wammwe.” Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, wanaabangawo okuwummulira ddala okw'ekijjukizo, okulangirirwa nga bafuuwa eŋŋombe, era munaakuŋŋaananga okusinza. Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa, era temuukolenga mulimu na gumu ogw'emikono.” Mukama n'agamba Musa nti: “Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, lwe lunaku olw'okuddaabiririzangako. Ku lunaku olwo, muneebonerezanga, era munaakuŋŋaananga okusinza, ne muwaayo eri Mukama ekitone eky'ebyokulya. Temuukolenga mirimu gya mikono ku olwo, kubanga lwe lunaku olw'okuddaabiririzaako ku lwammwe, mu maaso ga Katonda wammwe. Buli ateebonerezenga ku lunaku olwo, anaabanga abooleddwa mu bantu be, era buli anaakolanga omulimu ku olwo, nnaamuboolanga n'aggyibwa mu bantu be. Temuukolenga mulimu na gumu. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, yonna gye munaabeeranga. Okuva akawungeezi k'olunaku olw'omwenda olw'omwezi, okutuuka akawungeezi k'olunaku olw'ekkumi, munaakuumanga olunaku luno lube lwa Sabbaato ey'okuwummulira ddala, era muneebonerezanga.” Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, wanaabangawo Embaga ekolerwa Mukama ey'Ensiisira, okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw'olubereberye ku zo, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu ogw'emikono. Buli lunaku, mu nnaku ezo omusanvu, munaawangayo ekitone ekyokebwa. Ku lunaku olw'omunaana, munaakuŋŋaananga okusinza, ne muwaayo ekitone ekyokebwa. Lunaabanga lunaku lukulu lwa kusinzizaako, era temuukolenga mirimu gya mikono. “Ezo ze nnaku enkulu, Mukama z'abalagidde, ze munaalangiriranga okukuŋŋaana okusinza, n'okuwaayo eri Mukama ebitone eby'ebyokulya, n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebitone eby'emmere ey'empeke, n'ebitambiro, n'ebitone eby'ebyokunywa, buli bimu ku nnaku zaabyo. Embaga ezo ze zeeyongedde ku Sabbaato za Mukama eza bulijjo. Era ebitone ebyo, bye byeyongedde ku bya bulijjo, bye muwaayo eri Mukama okutuukiriza obweyamo, n'ebitone bye muwaayo nga mweyagalidde. “Bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ennimiro zammwe, munaakuzanga embaga eno, okumala ennaku musanvu, nga mutandika n'olunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu. Ku lunaku olusooka, wanaabangawo okuwummulira ddala, okwenjawulo. Ku lunaku olwo, munaatwalanga ku bibala by'emiti gyammwe ebisinga obulungi. Munaatwalanga amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti egy'ebikoola ebingi, n'obuti obw'oku mbalama z'omugga, ne musanyukira ennaku musanvu, nga mutendereza mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. Munaakuzanga embaga eyo okumala ennaku musanvu buli mwaka. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna. Abayisirayeli bonna banaabeeranga mu nsiisira okumala ennaku musanvu, ab'ezzadde lyammwe balyoke bamanye nga nabeeza Abayisirayeli mu nsiisira, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.” Awo Musa n'ategeeza Abayisirayeli ennaku enkulu, Mukama z'abateereddewo okukuzanga. Mukama n'agamba Musa nti: “Lagira Abayisirayeli bakuleetere omuzigo omulungi oguggyiddwa mu mizayiti emisekule, ogw'okuteeka mu ttaala y'omu Weema ey'okunsisinkanirangamu, eyakenga obutazikira. Buli kawungeezi, Arooni anaagikoleezanga, n'agireka n'eyaka obutazikira, okutuusa enkeera ku makya, awo mu maaso ga Mukama, ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna. Arooni anaalabiriranga ettaala eyo ku kikondo kyayo ekya zaabu omulongoose, eyakenga mu maaso ga Mukama, obutazikira. “Munaddiranga obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, kilo kkumi na bbiri, ne mufumbamu emigaati kkumi n'ebiri. Munaagiteekanga mu mbu bbiri, ku buli lubu emigaati mukaaga, mu maaso ga Mukama, ku mmeeza ebikkiddwako zaabu omulongoose. Era munaateekanga obubaane obulungi ku buli lubu, nga ke kabonero ak'ekitone eky'ebyokulya, ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa, mu kifo ky'emigaati. Buli Sabbaato obutayosa, Arooni anaateekanga emigaati egyo mu maaso ga Mukama ku lw'Abayisirayeli, nga ye ndagaano ey'olubeerera. Emigaati egyo ginaabanga gya Arooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu Kifo Ekitukuvu, kubanga ekyo kye kitundu ekitukuvu ennyo eky'ebyokulya ebitonebwa eri Mukama.” Ne bamukuuma nga balinda Mukama abategeeze eky'okumukolera. Mukama n'agamba Musa nti: “Oyo akolimye, mumutwale ebweru w'olusiisira. N'abo bonna abaamuwulidde, bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, okukakasa nti yakolimye, ekibiina kyonna kimukube amayinja afe. Era tegeeza Abayisirayeli nti buli anaakolimiranga Katonda we, anaavunaanibwanga olw'ekibi kye. N'oyo anaavumanga erinnya lya Mukama, ekibiina kinaamukubanga amayinja n'afa. “Oyo anattanga omuntu, naye anattibwanga. N'oyo anattanga ensolo eteri yiye, anaagiriwangamu endala. Obulamu busasulwa bulamu. “Omuntu bw'atuusangako muntu munne ebisago, naye bye binaamutuusibwangako. Amenya munne eggumba, n'erirye linaamenyebwanga. Eriiso linaasasulwanga liiso, n'erinnyo linaasasulwanga linnyo. Ebisago omuntu by'anaatuusanga ku mulala, naye bye binaamutuusibwangako. Anattanga ensolo, anaagiriwangamu endala. Oyo atta omuntu, naye anattibwanga. Etteeka lino linaabatwalirangamu mwenna, Abayisirayeli n'abagwira abali mu mmwe, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.” Awo Abayisirayeli, Musa bwe yamala okubategeeza ebyo, oyo eyakolima ne bamutwala ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja n'afa. Bwe batyo Abayisirayeli ne bakola nga Mukama bwe yagamba Musa. Mukama n'agambira Musa ku Lusozi Sinaayi ategeeze Abayisirayeli nti: “Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, mulissaamu Mukama ekitiibwa nga muleka okulima ensi eyo buli mwaka ogw'omusanvu. Munaasiganga ennimiro zammwe, ne musaliranga ennimiro zammwe ez'emizabbibu, era ne mukungulanga ebibala byazo okumala emyaka mukaaga. Naye omwaka ogw'omusanvu, gunaabanga mwaka gwa kuleka ettaka liwummulire ddala, omwaka oguweereddwayo eri Mukama. Temuusigenga nnimiro zammwe, era temuusalirenga nnimiro zammwe ez'emizabbibu. Ebibala by'ebirime byammwe ebyemeza byokka temuubikungulenga, n'eby'emizabbibu egitali misalire temuubinogenga. Gunaabanga mwaka gwa kuleka ettaka liwummulire ddala. Newaakubadde ettaka teriirimwenga omwaka ogwo gwonna, naye linaababalizanga emmere, mmwe n'abaddu n'abazaana bammwe, n'abakozi bammwe, n'abagwira ababeera mu mmwe, n'ensolo zammwe enfuge n'ez'omu ttale mu nsi yammwe. Byonna bye linaabazanga, binaabanga bya kulya. “Munaabalanga emyaka musanvu emirundi musanvu, gye myaka gyonna awamu amakumi ana mu mwenda. Awo ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, olunaku olw'okuddaabiririzaako, munaatumanga omuntu n'atalaaga ensi yammwe yonna, ng'agenda afuuwa eŋŋombe ey'omwanguka. Bwe mutyo munaatukuzanga omwaka ogw'amakumi ataano, ne mulangirira eddembe eri abatuuze b'omu nsi yammwe. Mu mwaka ogwo, buli omu anaddizibwanga obutaka bwe, era buli omu eyatundibwa mu buddu, anaddangayo mu bantu be. Omwaka ogwo munaagumalanga mujaguza. Temuusigenga, era temuukungulenga ebyo ebyemeza byokka. Era mu mwaka ogwo temuukuŋŋaanyenga bibala bya mizabbibu egitali misalire. Omwaka ogwo gwonna gunaabanga gwa kujaguza era mutukuvu gye muli. Munaalyanga ebyo bye gubaza gwokka mu nnimiro. Mu mwaka ogwo, buli ekyatundibwa kinaddiranga nnyinikyo eyasooka. Kale bwe mubanga muguza Bayisirayeli bannammwe ettaka, oba nga mulibagulako, temuulyazaamaanyenga. Omuwendo gunaagerekebwanga, nga mubalira ku myaka, ettaka gye likyayinza okubaza ebibala, ng'omwaka ogw'okuliddiza alitunda tegunnatuuka. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emingi, omuwendo gunaabanga munene. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emitono, n'omuwendo gunaabanga mutono, kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gwe gutundibwa. Temuulyazaamaanyaganenga, naye mutyenga Mukama Katonda wammwe. “Mukuumenga amateeka gange, era mutuukirizenga ebiragiro byange, olwo munaabeeranga mirembe mu nsi. Era ensi eneebazanga ebibala byayo, ne mufuna bye mulya, ne mukkuta, ne mugibeeramu mirembe. “Naye muyinza okwebuuza nti munaalyanga ki mu mwaka ogw'omusanvu, nga temusize era nga temulina kye mukungula? Ndibawa omukisa mu mwaka ogw'omukaaga, ensi n'ebaza emmere eribamala mu myaka esatu. Bwe munaasiganga mu mwaka ogw'omunaana, munaabanga mukyalya ku bye mwakungula edda, era munaabanga mukyalina emmere ebamala okutuusa amakungula ag'omwaka ogw'omwenda lwe gunaatuukanga. “Ettaka teriitundibwenga okuliviiramu ddala olubeerera, kubanga lyange. Mwe muli bagwira era bayise, be nsenza. Mu nsi yammwe yonna gye mulimu, ettaka bwe litundibwa, munakkirizanga nnyiniryo eyasooka okulinunula. “Omuyisirayeli bw'anaayavuwalanga n'atunda ettaka lye, owooluganda lwe asinga okuba ow'okumpi, anaanunulanga ettaka eryo. Atalina ayinza kulinunula, bw'agaggawala n'afuna ebimala okulinunula, anaabalanga emyaka gy'amaze ng'alitunze, n'asasula eyaligula ekyo ekigya mu myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, n'alyoka alyeddiza. Bw'aba nga tasobola kulyeddiza, linaabeeranga mu mikono gy'oyo eyaligula, okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza. Linaateebwanga mu kujaguza, n'addamu okuba nnyiniryo. “Omuntu bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu kibuga ekiriko ekigo, anaayinzanga okuginunula mu bbanga ery'omwaka omulamba okuva lwe yagitunda. Kyokka bw'ataaginunulenga mu bbanga eryo ery'omwaka omulamba, eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula, n'eba yiye n'abasika be ennaku zonna. Tezzibwengayo mu mwaka ogw'okujaguza. Naye amayumba ag'omu byalo ebitaliiko kigo, ganaabalirwanga bumu ng'ennimiro: ganaayinzanga okununulibwa, era ganazzibwangayo mu mwaka ogw'okujaguza. Wabula Abaleevi, ennyumba zaabwe ezaazimbibwa mu bibuga byabwe ebyabaweebwa, banaayinzanga okuzinunula ebbanga lyonna. Omuleevi bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu bibuga ebyo, eneemuddizibwanga mu mwaka ogw'okujaguza, kubanga amayumba Abaleevi ge balina mu bibuga byabwe, gabeerera ddala gaabwe ennaku zonna mu Bayisirayeli. Naye ettaka erirundirwako ab'omu bibuga byabwe, teriitundibwenga kubanga liba lyabwe ennaku zonna. “Muyisirayeli munno bw'anaayavuwalanga, nga tasobola kweyimirizaawo, omuyambanga n'abeera naawe ng'omunoonyi w'obubudamo era omutuuze ow'ekiseera. Tomuggyangako magoba n'akatono, naye otyanga Katonda wo, n'oleka Muyisirayeli munno n'abeera naawe. Toomusabenga magoba ku nsimbi z'omuwola, wadde okumusasuza emmere gy'omuwa okulya. Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi y'e Kanaani, era okuba Katonda wammwe. “Era Muyisirayeli munno bw'anaayavuwalanga ne yeetunda gy'oli, toomukozesenga mirimu ng'omuddu. Anaabeeranga naawe ng'omukozi asasulwa empeera, era omunoonyi w'obubudamo, n'akuweerezanga okutuusa ku mwaka ogw'okujaguza. Olwo anaakuvangako ye n'abaana be, n'adda mu bantu be, kubanga Abayisirayeli baddu bange, be naggya mu nsi y'e Misiri. Tebaatundibwenga mu buddu. Temuubafugenga lwa maanyi, naye mutyenga Katonda wammwe. Nga mwagala abaddu n'abazaana, munaabagulanga mu mawanga agabeetoolodde. Era munaayinzanga okugula abaana b'abagwira n'ab'eŋŋanda zaabwe ababeera mu mmwe. Abaana be bazaalira mu nsi yammwe, banaabanga nvuma zammwe. Era munaabalaamiranga abaana bammwe ng'obusika, ne bafuuka envuma zaabwe. Abo be munaafuganga obuddu. Naye Abayisirayeli bannammwe, temuubafugenga na kkaaze. “Omugwira abeera mu mmwe bw'aba ng'agaggawadde, kyokka Muyisirayeli munnammwe n'ayavuwala, ne yeetunda eri omugwira oyo, oba n'atundayo omuntu ow'omu maka ge okuba omuddu, bw'anaamalanga okutundibwa, anaayinzanga okununulibwa omu ku baganda be, kitaawe omuto, oba mutabani wa kitaawe omuto, oba omulala ku booluganda lwe ow'okumpi, anaayinzanga okumununula. Oba naye yennyini bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula. Anaateesanga n'oyo eyamugula, ne babalirira emyaka okuva mu kiseera kye yeetundiramu, okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, omuwendo gw'asasula okwenunula ne gugererwa ku mpeera y'omukozi, egwanira emyaka egyo. nga babala empeera eya buli mwaka. Eyamugula taamufugenga na kkaaze. Bw'ataanunulibwenga bw'atyo, ye n'abaana be banaateebwanga mu mwaka ogw'okujaguza, kubanga Abayisirayeli baddu bange, be naggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe. “Temwekolerenga bifaananyi oba okwesimbirawo ekifaananyi ekyole, wadde empagi esinzibwa, oba ejjinja eryole okubisinzanga. Nze Mukama Katonda wammwe. Mukuumenga Sabbaato zange, era mussengamu ekitiibwa Ekifo kyange Ekitukuvu. Nze Mukama. “Bwe munaakoleranga ku mateeka gange, ne mukuumanga ebiragiro byange, nnaabawanga enkuba mu biseera byayo, ensi n'ebaza ebirime, n'emiti egy'omu nnimiro ne gibala ebibala. Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta, era munaabeeranga mirembe mu nsi yammwe. “Nnaabawanga emirembe mu nsi yammwe, ne mwebakanga nga tewali abatiisa. Era ndimalawo ensolo ez'akabi mu nsi yammwe, era ensi yammwe teebeerengamu ntalo. Munaawangulanga abalabe bammwe. Abataano ku mmwe banaawangulanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaawangulanga omutwalo mulamba. Mu lutalo, abalabe bammwe banaagwanga ne bafa mu maaso gammwe. Nnaabawanga mmwe omukisa, ne mbawa okuzaala abaana bangi, era nnaakuumanga endagaano gye nakola nammwe. Munaalyanga ku bye mwakungula edda ne mutereka, era munaafulumyanga ebyo ebikadde okuyingiza ebiggya. Nnaabeeranga mu mmwe, era siibakyawenga. Nnaatambuliranga mu mmwe, ne mba Katonda wammwe, mmwe ne muba bantu bange. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mulyoke mulemenga kuba baddu baabwe. Namenyawo obuyinza obwali bubasibye ekikoligo, ne mbatambuza nga mwesimbye. “Naye bwe mutampulirenga ne mutatuukiriza biragiro byange ebyo byonna, era bwe munaagaananga okukwata amateeka gange ne mukyawa bye mbakuutira, era ne mutatuukiriza biragiro byange byonna, bwe mutyo ne mumenya endagaano gye nkoze nammwe, ndibabonereza bwe nti: ndireeta entiisa mu mmwe. Omusujja n'endwadde ezitawonyezeka biribaziba amaaso, ne bikonzibya obulamu bwammwe. Mulisiga ensigo, naye teziibagasenga, kubanga abalabe bammwe banaabawangulanga ne balya bye musize. Ndibeefuulira mmwe, ne muwangulwa abalabe bammwe, ne mufugibwanga ababakyawa. Munaagwibwangamu entiisa, ne mudduka nga tewali abagoba. “Ebyo byonna bwe binaamalanga okubaawo, era ne mutampulira, ekibonerezo kyammwe nnaakyongerangako emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. Nnaamenyanga obukakanyavu bw'olwetumbu lwammwe. Tewaabenga nkuba. Kale ensi yammwe erikala, n'eba ng'ekyuma. Bwe munaakolanga emirimu, amaanyi gammwe ganaabafanga bwereere, kubanga ettaka lyammwe teriibazenga bibala. “Era bwe munaayongeranga okumpakanya n'obutampulira, ekibonerezo kyammwe era nnaakyongerangako emirundi musanvu, okusinziira ku bibi byammwe. Nnaasindikanga mu mmwe ensolo enkambwe, ne zitta abaana bammwe, era ne zizikiriza amagana gammwe. Zinaabakendeezanga obungi, n'amakubo gammwe ne gazika. “N'ebyo bwe binaalemanga okubakomyawo gye ndi, ne mwongera okumpakanya, kale nange ndibeefuulira ne mbabonereza okusingawo emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. Nnaabaleeteranga entalo okubonereza eggwanga lyammwe lye nakola nalyo endagaano. Era bwe muneekuŋŋaanyizanga awamu mu bibuga byammwe okwetaasa, nnaabasindikangamu kawumpuli, ne muwalirizibwa okwewaayo eri abalabe bammwe. Bwe nnaakendeezanga emmere yammwe, abakazi ekkumi baneetaaganga ekyoto kimu kyokka okufumbiramu emigaati. Banaagipimanga, ne mugirya gyonna, naye ne mutakutta. “Era ebyo bwe binaalemwanga okubagonza, naye ne mwongera obutampulira n'okumpakanya, olwo nnaabakyukiranga nga nsunguwadde, ne nnyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. Munaalumwanga nnyo enjala, ne mutuuka n'okulyanga abaana bammwe. Nnaazikirizanga ebifo eby'oku nsozi bye musinzizaamu balubaale, ne mmenyerawo ddala ebyoterezo byammwe eby'obubaane, n'emirambo gyammwe ne ngisuula ku mirambo gy'ebyo bye musinza. Nnaabeetamwanga, ne nsaanyaawo ebibuga byammwe, n'ebifo mwe musinziza, era ne sikkiriza bitambiro byammwe. Ensi yammwe ndigifuula eddungu, n'abalabe bammwe abalijja okugibeeramu ne beewuunya okulaba bw'ezikiridde. Nnaabaleeteranga entalo, ne mbasaasaanyiza mu mawanga. Ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe ne bisigala matongo. “Abo ku mmwe abanaabeeranga mu buwaŋŋanguse, nnaabaleetangamu okutya, n'ekikoola ekinyeenyezebwa embuyaga, banaakiwuliranga ne badduka. Munaddukanga nga be bawondera mu lutalo, ne mugwa, nga tewali abagoba. Munaalinnyaganangako mwekka na mwekka, nga tewali abawondera, era temuubengako mulabe gwe muyinza kulwanyisa. Munaafiiranga mu mawanga, ne mumiribwa ensi y'abalabe bammwe. Abatono ku mmwe abanaawonangawo mu nsi y'abalabe bammwe, banaakenenanga olw'ebibi byabwe, n'olw'ebibi bya bajjajjaabwe. “Naye bazzukulu bammwe bwe banaayatulanga ebibi byabwe n'ebibi bya bajjajjaabwe abampakanya ne banjeemera ne bandeetera okubalwanyisa n'okubatwala mu nsi y'abalabe baabwe, bazzukulu bammwe abo bwe balimala okutoowazibwa, ne bakkiriza okubonerezebwa olw'ebibi byabwe, olwo ndijjukira endagaano gye nakola ne Yakobo, ne Yisaaka era ne Aburahamu, era ndijjukira ensi gye nabasuubiza. Naye ensi eneemalanga kulekebwa n'ezika, bo nga tebaliimu, n'ewummula, era banakkirizanga okubonerezebwa olw'okujeemera ebiragiro byange, n'obutakwata mateeka gange. Naye ebyo byonna ne bwe binaabanga bwe bityo, nga bakyali mu nsi y'abalabe baabwe, siibeegobengako, wadde okubakyawa okutuuka okubasaanyizaawo ddala, n'okumenyawo endagaano gye nakola nabo, kubanga nze Mukama Katonda waabwe. Naddangamu buggya endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe, bwe nalaga amawanga gonna obuyinza bwange nga mbaggya mu nsi y'e Misiri, nze Mukama ndyoke mbenga Katonda waabwe.” Ago ge mateeka n'ebiragiro bye yaweera Abayisirayeli ku Lusozi Sinaayi, ng'ayita mu Musa. Mukama n'agamba Musa ategeeze Abayisirayeli nti: “Omuntu bw'aneeyamanga okuwonga abantu eri Mukama, anaasobolanga okutuukiriza obweyamo obwo, ng'awaayo omuwendo gw'ensimbi guno, ogunaabalirirwanga ku mbala entongole ey'omu Kifo Ekitukuvu. Bw'anaabanga omusajja ow'emyaka okuva ku makumi abiri okutuuka ku nkaaga, zinaabanga sekeli amakumi ataano eza ffeeza. Bw'anaabanga omukazi, zinaabanga sekeli amakumi asatu. Bw'anaabanga omulenzi okuva ku myaka etaano okutuuka ku makumi abiri, zinaabanga sekeli amakumi abiri eza ffeeza, omuwala sekeli kkumi eza ffeeza. Omwana ow'obulenzi ali wansi w'emyaka etaano, zinaabanga sekeli ttaano eza ffeeza. Oyo asussizza emyaka enkaaga, nga musajja, zinaabanga sekeli kkumi na ttaano eza ffeeza; nga mukazi, sekeli kkumi eza ffeeza. Kyokka oyo eyeeyama bw'anaabanga omwavu, nga tasobola kusasulira ku mbalirira eyo, omuntu gwe yeeyama okuwaayo anaamuleetanga mu maaso ga kabona, kabona n'amusalira omuwendo, ng'asinziira ku ekyo, oyo awaayo ky'asobola okusasula. “Obweyamo, bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo ekkirizibwa okuba ekitone eri Mukama, olwo ebitone byonna buli muntu by'anaawangayo eri Mukama, binaabanga bitukuvu. Taakyusenga kuteekawo ndala, wadde okuwaanyisaamu ennungi mu kifo ky'embi, oba embi mu kifo ky'ennungi. Bw'anaawanyisangamu emu okuteekawo endala, olwo ensolo zombi zinaabanga za Mukama. Naye obweyamo, bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo eteri nnongoofu, etekkirizibwa okuba ekitone eri Mukama, omuntu anaagitwalanga eri kabona, kabona n'alamula omuwendo ogugigyamu, ng'alabira ku bulungi oba ku bubi bwayo. Omuwendo gw'anaalamulanga, gwe gunaabanga ogw'enkomerero. Agireese bw'anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga omuwendo gwayo, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo. “Omuntu bw'anaawangayo ennyumba ye ebe ya Mukama, kabona anaalamulanga omuwendo ogugigyamu, ng'alabira ku birungi oba ku bitali birungi ebigiriko. Omuwendo gw'anaalamulanga, gwe gunaabanga ogw'enkomerero. Oyo agiwaayo bw'anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga omuwendo gwayo, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo. “Omuntu bw'anaawangayo ekitundu ky'ettaka lye, libe erya Mukama, omuwendo gwalyo gunaalamulwanga, okulabira ku bungi bw'ensigo ezimala okukisiga, nga buli kilo amakumi abiri eza bbaale, zigula sekeli ttaano eza ffeeza. Bw'anaawangayo ennimiro ng'omwaka ogw'okujaguza gwakaggwaako, eneebanga ku muwendo gwonna ogugiramuddwa. Bw'anaagiwangayo nga gumaze ebbanga nga guweddeko, kabona anaabaliriranga omuwendo gwayo, ng'alabira ku myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, n'akendeeza ku muwendo gwayo. Awaddeyo ennimiro bw'anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga omuwendo gwayo, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo, n'esigala nga yiye. Bw'ataayagalenga kuginunula, oba bw'anaagiguzanga omulala nga tannaginunula, eneebanga tekyayinza kununulibwa. Ku mwaka ogw'okujaguza oguddirira, eneefuukiranga ddala ya Mukama ennaku zonna, n'eba ya bakabona. “Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ennimiro gye yagula obuguzi nga teyagisikira, kabona anaabaliriranga omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, ng'alabira ku myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, agiwaddeyo n'asasula omuwendo ogwo ku lunaku olwo, ensimbi ne ziba za Mukama. Mu mwaka ogw'okujaguza, ennimiro eneddiranga eyagitunda, oba abasika be. “Emiwendo gyonna ginaabalirirwanga ku bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu. “Ensolo eggula enda, eba ya Mukama. N'olwekyo tewaabengawo agimutonera. Nga nte, oba nga ndiga, oba nga mbuzi, eba ya Mukama. Naye bw'eneebanga ey'ensolo eteri nnongoofu, eneenunulibwanga ku muwendo ogubaliriddwa, ne kugattibwako ekimu ekyokutaano kyagwo. Bw'eneebanga tenunuddwa, eneeguzibwanga omuntu omulala ku muwendo gw'ebaliriddwamu. “Naye tewaabengawo kintu kiwongeddwa eri Mukama, omuntu ky'anaabanga awongedde Mukama ku byonna by'alina, k'abe muntu oba k'ebe ensolo oba ka kibe kibanja eky'obutaka, ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga. Buli kintu ekyawongerwa Mukama, kisigala nga kya Mukama ennaku zonna. Ne bw'aba muntu tewaabenga anunulibwa, kasita aba nga yawongerwa Mukama, wabula anattibwanga. “Ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebirime ebikungulwa mu nsi, oba eky'ensigo, oba eky'ebibala by'emiti, kya Mukama. Kinaaweebwangayo gy'ali. Omuntu bw'anaayagalanga okununula ku bitundu ebyo eby'ekkumi eby'ebirime bye, anaasasulanga omuwendo ogubigyamu, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo. Ku nsolo enfuge, buli nsolo kkumi ezibalibwa, emu eneeweebwangayo eri Mukama. Nnannyini nsolo, taayawulengamu nnungi na mbi, era taaziwaanyisenga. Ensolo emu bw'anaagiwaanyisangamu endala, zombi zinaaweebwangayo eri Mukama, era teziinunulwenga.” Ebyo bye biragiro, Mukama bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lw'Abayisirayeli. Mu ddungu ly'e Sinaayi, ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokubiri, mu mwaka ogwokubiri okuva Abayisirayeli lwe baava mu nsi y'e Misiri, Mukama n'ayogera ne Musa mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama. N'agamba nti: “Mubale Abayisirayeli bonna, nga mugoberera ensibuko zaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe. Mubale abasajja bonna kinnoomu, era muwandiike amannya gaabwe gonna. Ggwe ne Arooni mujja kubala abasajja bonna mu Yisirayeli abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abayinza okugenda okutabaala, nga mubabalira mu bibinja byabwe. Mu buli kika mujja kuvaamu omukulu w'ennyumba ya bajjajjaabe, akole nammwe. Era gano ge mannya g'abasajja abanaakola nammwe: mu Kika kya Rewubeeni, Elizuuri mutabani wa Sedewuri; mu Kika kya Simyoni, Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi; mu Kika kya Yuda, Nahusooni mutabani wa Amminadabu; mu Kika kya Yissakaari, Netaneeli mutabani wa Zuwari; mu Kika kya Zebbulooni, Eliyaabu mutabani wa Heloni; mu baana ba Yosefu: mu Kika kya Efurayimu, Elisaama mutabani wa Ammihudi; mu Kika kya Manasse, Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri; mu Kika kya Benyamiini, Abidaani mutabani wa Gidiyoni; mu Kika kya Daani, Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi; mu Kika kya Aseri, Pagiyeeli mutabani wa Okuraani; mu Kika kya Gaadi, Eliyasaafu mutabani wa Deweli; mu Kika kya Nafutaali, Ahira mutabani wa Enani.” Abo be bakulu b'ebika era abakulembeze b'enkumi n'enkumi z'Abayisirayeli. Awo Musa ne Arooni ne batwala abantu abo abamenyeddwa amannya, ne bakuŋŋaanya abantu bonna ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokubiri. Abantu ne boogera obuzaale bwabwe, nga balaga ensibuko zaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe. Abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, ne bawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu. Bw'atyo Musa n'abalira abantu mu ddungu ly'e Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira. Ab'omu Kika kya Rewubeeni, omuggulanda wa Yisirayeli, abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya, kinnoomu, okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Rewubeeni, baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano. Ab'omu Kika kya Simyoni, abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya, kinnoomu, okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Simyoni, baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu. Ab'omu Kika kya Gaadi, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Gaadi, baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano. Ab'omu Kika kya Yuda, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Yuda, baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga. Ab'omu Kika kya Yissakaari, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Yissakaari, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina. Ab'omu Kika kya Zebbulooni, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Zebbulooni, baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina. Mu basibuka mu Yosefu: ab'omu Kika kya Efurayimu, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Efurayimu, baali emitwalo ena mu bitaano. Ab'omu Kika kya Manasse, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Manasse, baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri. Ab'omu Kika kya Benyamiini, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Benyamiini, baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina. Ab'omu Kika kya Daani, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Daani, baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu. Ab'omu Kika kya Aseri, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Aseri, baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano. Ab'omu Kika kya Nafutaali, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Nafutaali, baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina. Abo be baabalibwa Musa ne Arooni, nga bayambibwako abakulembeze ba Yisirayeli, abasajja ekkumi n'ababiri, buli omu ng'akiikirira ennyumba ya bajjajjaabe. Bwe batyo Abayisirayeli bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala mu ggye lya Yisirayeli, abaabalibwa okusinziira ku buzaale bwabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe, abo bonna abaabalibwa, baali emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. Naye bo Abaleevi, tebaabalibwa wamu na ba bika birala, kubanga Mukama yagamba Musa nti: “Naye ab'omu Kika kya Leevi tobabala, era omuwendo gwabwe togugatta ku gwa Bayisirayeli bannaabwe. Wabula Abaleevi bawe omulimu ogw'okulabiriranga Weema ey'Okunsisinkanirangamu, era n'okulabiriranga ebintu byayo byonna, ne byonna ebigigenderako. Banaagisitulanga n'ebintu byayo byonna, era be banaabanga abaweereza baayo, era banaasiisiranga okugyetooloola. Buli lwe munaabanga musengula olusiisira, Abaleevi be banaasimbulanga Weema. Era bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga. Atali Muleevi anaagisembereranga, anattibwanga. Abayisirayeli abalala, banaasimbanga eweema zaabwe, buli omu mu lusiisira lwe, ne mu kibinja kye, awali bbendera ye. Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola Weema ey'Okunsisinkanirangamu, ekibiina ky'Abayisirayeli kireme kusunguwalirwa. Era Abaleevi be banaabeeranga n'obuvunaanyizibwa ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu.” Bwe batyo Abayisirayeli ne bakola byonna Mukama bye yalagira Musa. Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Abayisirayeli bwe banaabanga basiisira, buli muntu ajjanga kusiisira awali bbendera y'ekibinja kye, era awali obubonero bw'Ekika kye. Banaasiisiranga okwetooloola Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, nga bagyesuddeko ebbanga. “Abanaasiisiranga ku ludda lw'ebuvanjuba nga batunuulidde enjuba gy'eva, banaabanga ba bbendera ya lusiisira lwa Yuda mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Yuda ye Nahusooni mutabani wa Amminadabu. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga. Ab'Ekika kya Yissakaari be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Netaneeli mutabani wa Zuwari. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina. Ne kuddako ab'Ekika kya Zebbulooni, ng'omukulembeze waabwe ye Eliyaabu mutabani wa Heloni. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu kasanvu mu bina. Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Yuda, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu bina. Abo be banaasookanga okutambula. “Ku ludda olw'ebukiikaddyo, we wanaabanga bbendera y'olusiisira lwa Rewubeeni mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Rewubeeni ye Elizuuri mutabani wa Sedewuri. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano. Ab'Ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu kenda mu bisatu. Ne kuddako ab'Ekika kya Gaadi, ng'omukulembeze waabwe ye Eliyasaafu mutabani wa Reweli. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano. Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Rewubeeni, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi n'etaano mu lukumi mu bina mu ataano. Abo be banaabeeranga mu kifo ekyokubiri mu kutambula. “Awo Eweema ey'okunsisinkanirangamu n'eryoka eddako, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi, wakati w'ensiisira ezikulembera n'eziddirira. Nga bwe baddiriŋŋana mu kusiisira, era bwe banaddiriŋŋananga mu kutambula, bagoberere bbendera zaabwe, nga buli omu atambulira mu kifo kye. “Ku ludda olw'ebugwanjuba, we wanaabanga bbendera y'olusiisira lwa Efurayimu, mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Efurayimu, ye Elisaama mutabani wa Ammihudi. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu bitaano. Ab'Ekika kya Manasse be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri. Ne kuddako ab'Ekika kya Benyamiini, ng'omukulembeze waabwe ye Abidaani mutabani wa Gidiyoni. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina. Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Efurayimu, mu bibinja byabwe baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi. Abo be banaabeeranga mu kifo ekyokusatu mu kutambula. “Ku ludda olw'ebukiikakkono, we wanaabanga bbendera ey'olusiisira lwa Daani mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Daani, ye Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu. Ab'Ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Pagiyeeli mutabani wa Okuraani. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu lukumi mu bitaano. Ne kuddako ab'Ekika kya Nafutaali, ng'omukulembeze waabwe ye Ahira mutabani wa Enani. Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina. Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Daani, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi n'etaano mu kasanvu mu lukaaga. Abo be banaasembangayo emabega, nga bbendera bwe ziddiriŋŋana.” Abo be Bayisirayeli abaabalibwa okusinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe. Abasajja bonna abaabalibwa mu nsiisira zonna, mu bibinja byabwe, baali emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. Naye nga Mukama bwe yalagira Musa, bo Abaleevi tebaabalibwa wamu na Bayisirayeli bannaabwe. Bwe batyo Abayisirayeli ne batuukiriza byonna Mukama bye yalagira Musa: ne basiisiranga awali bbendera zaabwe, era ne batambulanga bwe batyo, okusinziira ku nsibuko ya buli omu, n'ennyumba ya bajjajjaabe. Bino bye bifa ku zzadde lya Arooni ne Musa, mu kiseera Mukama kye yayogereramu ne Musa ku Lusozi Sinaayi. Gano ge mannya ga batabani ba Arooni: Nadabu omuggulanda, ne Abihu, Eleyazaari, ne Yitamaari. Ago ge mannya ga batabani ba Arooni, bakabona abaafukibwako omuzigo, ne baawulibwa okuweerezanga mu bwakabona. Kyokka Nadabu ne Abihu ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baaleeta mu maaso ge omuliro gw'atabalagidde, mu ddungu ly'e Sinaayi. Tebaalina baana. Olwo Eleyazaari ne Yitamaari ne baweerezanga mu bwakabona, nga balabirirwa Arooni kitaabwe. Mukama n'agamba Musa nti: “Leeta ab'omu Kika kya Leevi, obakwase Arooni kabona bamuweerezenga. Banaayambanga bakabona n'abantu bonna okutuukiriza bye balagirwa okukola mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Banaalabiriranga ebintu byonna eby'omu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, era banaakoleranga Abayisirayeli abalala bonna bye balagirwa okukola mu Weema eyo. Onoggya Abaleevi mu Bayisirayeli bannaabwe, obaweere ddala Arooni ne batabani be. Era onooteekawo Arooni ne batabani be, okukola omulimu gwabwe ogw'obwakabona. Omuntu omulala yenna anaagezangako okugukola, anattibwanga.” Mukama n'agamba Musa nti: “Nze nzennyini neerobozezza ne ntwala Abaleevi be nzigye mu Bayisirayeli, mu kifo ky'okutwala buli muggulanda mu baana ab'obulenzi ab'Abayisirayeli. Kaakano Abaleevi bafuuse bange, kubanga buli muggulanda, wange. Okuva ku lunaku lwe nattirako abaggulanda bonna mu nsi y'e Misiri, neeyawulira buli muggulanda mu Yisirayeli, ow'abantu n'ow'ensolo. Banaabeeranga bange, Nze Mukama.” Mukama n'ayogera ne Musa mu ddungu ly'e Sinaayi, n'agamba nti: “Bala Abaleevi ng'ogoberera ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, obale buli mulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo.” Awo Musa n'ababala nga Mukama bwe yamulagira. Bano be batabani ba Leevi: Gerusooni, ne Kohati, ne Merari. Gano ge mannya ga batabani ba Gerusooni, era bajjajja b'abasibuka mu ye: Libuni ne Simeeyi. Batabani ba Kohati, era bajjajja b'abasibuka mu ye, be bano: Amuraamu ne Yizuhaari, Heburooni ne Wuzziyeeli. Batabani ba Merari, era bajjajja b'abasibuka mu ye, be bano: Mahuli ne Muusi. Abo be basibukamu Abaleevi, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali. Mu Gerusooni mwe musibuka Abalibuni n'Abasimeeyi. Abo be Bagerusooni. Omuwendo gwabwe bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, abaabalibwa, gwali kasanvu mu bitaano. Abasibuka mu Gerusooni be baasiisiranga emabega w'Eweema, ebugwanjuba, nga bakulirwa Eliyasaafu mutabani wa Laweli. Omulimu gwa Bagerusooni mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, gwali gwa kugirabiriranga n'ebigibikkako munda ne kungulu, n'okulabirira olutimbe olw'omu mulyango gwayo, n'entimbe ez'oluggya olugyetooloola, yo ne alutaari, n'olutimbe lw'omulyango gw'oluggya olwo, n'emiguwa gyalwo egikozesebwa ku mulimu gwalwo gwonna. Ate mu Kohati mwe musibuka Abamuraamu, n'Abayizuhaari, n'Abaheburooni n'Abawuzziyeeli. Abo be Bakohati. Omuwendo gwabwe bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, gwali kanaana mu lukaaga. Abo be baalabiriranga Ekifo Ekitukuvu. Abasibuka mu Kohati be baasiisiranga ku ludda olw'ebukiikaddyo bwa Weema, nga bakulirwa Elizafani, mutabani wa Wuzziyeeli. Omulimu gwabwe gwali gwa kulabirira Ssanduuko ey'Endagaano, n'emmeeza, n'ekikondo ky'ettaala, ne zaalutaari, n'ebintu eby'omu Kifo Ekitukuvu bakabona bye bakozesa mu kuweereza, n'olutimbe, n'ebikozesebwa ku lwo. Eleyazaari mutabani wa Arooni kabona, ye yali omukulu w'abakulembeze b'Abaleevi. Ye yalondebwa okukulira abalabirira Ekifo Ekitukuvu. Mu Merari mwe musibuka Abamahuli, n'Abamuusi. Abo be Bamerari. Omuwendo gwabwe bonna abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, gwali kakaaga mu bibiri. Be baasiisiranga ku ludda lw'Eweema olw'ebukiikaddyo, abakulira nga ye Zuuriyeeli mutabani wa Abihayili. Omulimu ogwaweebwa Abamerari gwali gwa kulabiriranga mbaawo za Weema n'emikiikiro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna ebikozesebwa ku yo. Era baaweebwa ogw'okulabiriranga empagi, n'ebinnya, n'enninga, n'emiguwa, eby'oluggya olwetooloola Eweema. Musa ne Arooni ne batabani be, be baasiisiranga ebuvanjuba, mu maaso g'Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga boolekedde enjuba gy'eva. Be baalabiriranga Ekifo Ekitukuvu okutuukiriza ebyalagirwa Abayisirayeli. Omuntu omulala yenna eyasembereranga ekifo ekyo, yabanga wa kuttibwa. Abaleevi bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, Musa ne Arooni be baabala nga bagoberera ensibuko zaabwe, nga Mukama bwe yalagira, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Bala abaggulanda bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, ab'Abayisirayeli, owandiike amannya gaabwe. Naye mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, njawulira Abaleevi, babe bange, Nze Mukama. Era njawulira amagana g'Abaleevi gabe gange, mu kifo ky'ensolo zonna ezisooka okuzaalibwa mu magana g'Abayisirayeli.” Awo Musa n'abala abaggulanda bonna ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, nga Mukama bwe yamulagira. Era abaggulanda bonna ab'obulenzi, okuva ku bawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, abaawandiikibwa amannya gaabwe ne babalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsavu mu basatu. Mukama n'agamba Musa nti: “Mu kifo ky'abaggulanda ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, yawula Abaleevi babe bange, era yawula amagana gaabwe gabe gange, mu kifo ky'amagana g'Abayisirayeli. Nze Mukama. Olw'okununula abaggulanda ab'obulenzi ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu ab'Abayisirayeli, abaasukka ku muwendo gw'Abaleevi, onoosolooza sekeli ttaano olwa buli omu, ez'ekipimo ekitongole eky'omu Kifo Ekitukuvu, ze ggeera amakumi abiri buli sekeli. Ensimbi ezo onooziwa Arooni ne batabani be, olw'okununula abo abeeyongeramu.” Bw'atyo Musa n'asolooza ensimbi ku abo abaafikkawo nga tebanunuliddwa Baleevi. Ensimbi ze yasolooza ku baggulanda ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, zaawera sekeli lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ttaano, ez'ekipimo ekitongole eky'omu Kifo Ekitukuvu. Awo Musa n'awa Arooni ne batabani be ensimbi ezo ezaanunula, nga Mukama bwe yamulagira. Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Mubale abasajja Abaleevi ab'olulyo lwa Kohati, nga mugoberera ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe. Mubale okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu n'okusingawo, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli asobola okukola omulimu ogw'obuweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Omulimu Abakohati gwe banaakolanga mu Weema eyo, gwe gw'okulabiriranga ebintu ebitukuvu ennyo. “Ab'omu lusiisira bwe banaabanga banaatera okutandika olugendo, Arooni ne batabani be banaayingiranga mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, ne bawanulayo olutimbe olutimbibwa mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, ne balubikka ku yo. Ne bateekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne baaliirira okwo olugoye olwa bbululu omwereere, ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa. “Ne ku mmeeza ey'emigaati egiweebwayo eri Katonda, banaayaliirirangako olugoye olwa bbululu, ne bateekako essowaani n'ebijiiko, n'ebbakuli, n'ebikopo eby'ekiweebwayo ekinywebwa. Era olubeerera, ku mmeeza kunaabeerangako emigaati egiweebwayo eri Katonda. Ebyo banaabyaliirirangako olugoye olumyufu, ne bateekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, olwo emmeeza ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa. “Ne baddira olugoye olwa bbululu, ne basabika ekikondo ky'ettaala, n'ettaala zaakyo, ne makansi zaakyo, n'ensaniya zaakyo ez'evvu, ne byonna ebiteekebwamu amafuta agakozesebwa mu kyo. Ne bakisiba n'ebintu byakyo byonna mu kisabika eky'amaliba amagonvu, ne bakiteeka ku miti kwe kisitulirwa. “Ne ku alutaari eya zaabu, banaayaliirirangako olugoye olwa bbululu, ne bateekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa. Ne baddira ebintu byonna ebikozesebwa mu Kifo Ekitukuvu, ne babisiba mu lugoye olwa bbululu, ne babiteekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne babiteeka ku lubaawo kwe bisitulirwa. Ne baggya evvu ku alutaari, ne bagyaliirirako olugoye olwa kakobe, ne bagiteekako ebintu byayo byonna ebikozesebwa ku yo: ensaniya ezinyookezebwako obubaane, ffooka ez'okukwasa ennyama, ebitiiyo eby'okuyooza evvu, n'ekkalaayi ezikozesebwa mu kumansira. Ebintu bya alutaari ebyo byonna ne babiteekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa. Awo Arooni ne batabani be bwe banaamalirizanga okusabika buli kintu ekitukuvu ne byonna ebikigenderako, ab'omu lusiisira nga banaatera okutandika olugendo, Abakohati ne balyoka bajja okubisitula. Naye tebaakwatenga butereevu ku bitukuvu, sikulwa nga bafa. Ebyo bye bintu eby'omu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, Abakohati bye banaasitulanga. Eleyazaari mutabani wa Arooni kabona, ye anaabanga n'omulimu ogw'okulabirira amafuta ag'ettaala, n'obubaane obuwunya akaloosa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekitabulawo, n'omuzigo ogufukibwa ku bantu ne ku bintu. Era ye anaalabiriranga Eweema yonna, n'ebigirimu byonna, Ekifo Ekitukuvu n'ebintu byamu byonna.” Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Temuleetera lulyo lwa Bakohati kusaanawo mu Baleevi. Naye kino kye muba mubakolera balemenga kufa, bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo: Arooni ne batabani be, be banaayingiranga ne bawa buli muntu omulimu gw'anaakola, n'ekintu ky'anaasitula. Naye Abakohati tebagezanga ne bayingira okutunuulira obutereevu ku bitukuvu wadde akaseera akatono, baleme kufa.” Mukama n'agamba Musa nti: “Bala abasajja ab'olulyo lwa Gerusooni, ng'ogoberera ennyumba za bajjajjaabwe n'ensibuko zaabwe. Abasajja abawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, b'oba obala, buli asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. “Guno gwe mulimu Abagerusooni gwe banaakolanga: banaasitulanga entimbe z'Eweema Entukuvu, n'Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, era n'ekigibikkako ekyomunda, n'ekigibikkako ekyokungulu eky'amaliba amagonvu, n'olutimbe olw'omu mulyango oguyingira mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, n'entimbe ez'oluggya, n'olutimbe olw'omu mulyango oguyingira mu luggya olwetooloola Eweema Entukuvu ne alutaari enjuyi zonna, n'emiguwa, ne byonna ebikozesebwa ku ntimbe ezo. Banaakolanga emirimu gyonna egyetaaga okukolebwa ku bintu ebyo. Arooni ne batabani be, be banaalaganga Abagerusooni emirimu gyonna gye bateekwa okukola, oba gya kusitula migugu, oba gya buweereza bulala. Byonna eby'okusitula mmwe munaabibakwasanga. Egyo gye mirimu ab'olulyo lwa Gerusooni gye banaakolanga mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Banaagikolanga nga balabirirwa Yitamaari mutabani wa Arooni kabona. “Ab'olulyo lwa Merari nabo onoobabala ng'ogoberera ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe. Abawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, b'oba obala, buli asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Omulimu gwabwe mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, gunaabanga gwa kusitula mbaawo z'Eweema Entukuvu, n'emikiikiro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'empagi z'oluggya olwetooloola Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo, wamu ne byonna ebikozesebwa ku bintu ebyo. Munaawandiikanga amannya gaabwe okulaga buli omu ekintu ky'aweereddwa okusitula. Egyo gye mirimu ab'olulyo lwa Merari gye banaakolanga, nga baweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Banaagikolanga nga balabirirwa Yitamaari, mutabani wa Arooni kabona.” Awo Musa ne Arooni n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli, ne babala abasajja ab'omu lulyo lwa Kohati, nga bagoberera ensibuko z'Abakohati abo, n'ennyumba za bajjajjaabwe, okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Abo abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano. Abo be b'omu lulyo lwa Kohati bonna, abaakolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, Musa ne Arooni be baabala, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa. N'abasajja ab'omu lulyo lwa Gerusooni, abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, abo abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, baali enkumi bbiri mu lukaaga mu asatu. Abo be b'omu lulyo lwa Gerusooni bonna, abaakolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, Musa ne Arooni be baabala, nga Mukama bwe yalagira Musa. N'abasajja ab'omu lulyo lwa Merari abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, abo abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaaabwe, baali enkumi bbiri mu bibiri. Abo be b'omu lulyo lwa Merari, Musa ne Arooni be baabala, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa. Abo be Baleevi bonna, Musa ne Arooni n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli be baabala, nga bagoberera ensibuko z'Abaleevi abo, n'ennyumba za bajjajjaabwe, okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza, n'ogw'okusitula emigugu mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Abo abaabalibwa baali kanaana mu bitaano mu kinaana. Nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa, buli musajja yabalibwa, n'aweebwa omulimu ogw'okukola, oba omugugu ogw'okusitula. Bwe batyo bwe baabalibwa nga Mukama bwe yalagira Musa. Mukama n'agamba Musa nti: “Lagira Abayisirayeli baggyenga mu lusiisira buli alina endwadde y'olususu etiisa, na buli alwadde ekikulukuto, na buli atali mulongoofu olw'okukoona ku kintu ekifudde. Abasajja n'abakazi abali bwe batyo, munaabaggyanga mu lusiisira ne mubafulumya ebweru, baleme kwonoona lusiisira lwe mbeeramu Nze wamu n'abantu bange.” Ekyo Abayisirayeli ne bakikola. Ne bafulumya abaali bwe batyo ebweru w'olusiisira, nga Mukama bwe yalagira Musa. Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja oba omukazi bw'akola ekibi ku muntu munne, anyiiza Mukama era omusango guba gumusinze. Anakkirizanga ekibi kye ky'akoze, n'aliwa mu bujjuvu ekintu ky'ayonoonye, n'ayongerako n'ekitundu kyakyo ekimu ekyokutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango. Naye gwe bazzaako omusango bw'aba nga yafa ate nga talina waaluganda lwa kumpi ayinza kuliyirwa, ekiriyibwa olw'omusango kinaaliyirwanga Mukama, ne kiba kya kabona, ne kyongerwako n'endiga ennume okusonyiyisa ebibi by'oyo eyazza omusango. Buli kiweebwayo ekyenjawulo Abayisirayeli kye baleetera Mukama, kinaabanga kya kabona gwe bakikwasizza. Buli ekiwongeddwa, kinaabanga kya kabona gwe bakikwasizza.’ ” Mukama n'agamba Musa ayogere n'Abayisirayeli abagambe nti: “Muk'omusajja bw'anaddanga ebbali n'ataba mwesigwa eri bba, omusajja omulala ne yeebaka naye mu kyama, bw'atyo omukazi oyo ne yeeyonoona nga bba tamanyi, era nga tewali mujulirwa amulumiriza, kubanga teyakwatirwa mu kikolwa ekyo, bba n'ajjirwa okuteerera nti mukazi we yeeyonoonye, oba n'amuteerera, kyokka nga teyeeyonoonye, omusajja oyo anaatwalanga mukazi we eri kabona. Era anaamuweerangayo ekitone kya kilo emu ey'obuwunga obwa bbaale. Taabufukengako muzigo gwa mizayiti, wadde okubuteekako obubaane, kubanga ekitone ekyo kye kiweebwayo omusajja ateerera mukazi we ne kiteekebwawo, amazima galyoke geeyoleke. “Kabona anaaleetanga omukazi oyo n'amuyimiriza mu maaso ga alutaari. Kabona anaddiranga amazzi agaweereddwa omukisa, n'agateeka mu kibya. N'atoola ku nfuufu eri wansi mu Weema Entukuvu, n'agiteeka mu mazzi ago, okugafuula agakaawa. N'ataggulula enviiri z'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obuwunga, ekiweereddwayo olw'okumalawo okuteerera. Ye kabona n'akwata mu mukono gwe amazzi agakaawa, agaleeta ekikolimo. Awo kabona anaalayizanga omukazi ng'amugamba nti: Oba nga tewabangawo musajja mulala yeebaka naawe, era oba nga toddangako bbali mu bya bwenzi sso ng'olina balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegaakukoleko kabi. Naye oba nga wadda ebbali sso ng'oli mukazi mufumbo, n'oyenda, olwo kabona anaalaamirizanga omukazi ebigambo eby'ekikolimo ng'agamba nti: Mukama akufuule anaajulirwanga mu bantu bo nga bakolima, bw'anaakonzibya ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo. Amazzi gano agaleeta ekikolimo, gayingire mu byenda byo, gatumbiize olubuto lwo, era gakonzibye ekisambi kyo. “Omukazi anaddangamu nti: ‘Yee, nzikirizza kibe bwe kityo. Yee, nzikirizza kibe bwe kityo.’ “Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi gali agakaawa. Kabona anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, amazzi ago ne gayingira mu ye, ne gakaawa. Awo kabona anaggyanga mu ngalo z'omukazi ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke eky'okumalawo okuteerera, n'akitwala ku alutaari. N'atoola ku kyo olubatu, nga ke kabonero k'ekiweebwayo ekyo, n'alwokera ku alutaari. Olwo n'alyoka anywesa omukazi amazzi. Omukazi oyo bw'anaabanga yayonoona n'ataba mwesigwa eri bba, amazzi agaleeta ekikolimo ganaamuleeteranga obulumi, olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikonziba, n'afuuka ekikolimo mu bantu be. Kyokka bw'anaabanga talina musango, taabengako kabi kamutuukako, era anaasobolanga okuzaala abaana. “Eryo lye tteeka erinaakozesebwanga, ng'omukazi omufumbo azze ebbali ne yeeyonoona mu bwenzi, oba ng'omusajja ajjiddwa ebirowoozo, n'ateerera mukazi we obwenzi. Omusajja oyo anaaleetanga mu maaso ga Mukama, omukazi gw'ateerera, kabona n'alyoka akozesa etteeka eryo lyonna. Omusajja oyo taabengako kibi ky'avunaanibwa. Naye omukazi bw'anaabanga yayonoona, anaabonerezebwanga olw'ekibi kye.” Mukama n'agamba Musa ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga ku lulwe okwewongera Mukama, amweweere ddala okumala ekiseera, anaayawukananga n'okunywa omwenge n'ebyokunywa ebirala ebitamiiza. Taanywenga ku kyakunywa na kimu ekikoleddwa mu mizabbibu, era taalyenga mizabbibu mibisi wadde egikaziddwa. Ennaku zonna z'alimala nga yeewongedde Mukama, taalyenga kintu na kimu ekiva ku muzabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta. “Ennaku zonna z'alibeera mu bweyamo bw'okwewongera Mukama, taasalenga ku nviiri ze era taazimwengako. Anaasibwanga obweyamo bwe ebbanga lyonna ly'alimala nga yeewongedde Mukama, era anaalekanga enviiri ze n'ebirevu bye ne bikula. Ennaku zonna ze yeewongeramu Mukama, taasembererenga mulambo kwefuula atali mulongoofu, ne bwe guba gwa kitaawe, oba gwa nnyina, oba gwa muganda we, oba gwa mwannyina, kubanga aba muwonge eri Katonda. Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, aba ayawuliddwa n'aba wa Mukama mu ngeri ey'enjawulo. “Singa omutwe gw'omuwonge gufuuka ogutali mulongoofu olw'omuntu afiiridde okumpi naye embagirawo, omuwonge oyo anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka amwa omutwe gwe, n'addamu okuba omulongoofu. Ku lunaku olw'omunaana, anaaleetanga eri kabona enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu. Awo kabona anaawangayo akamu ku bunyonyi obwo, kabe ekiweebwayo olw'ebibi, n'akookubiri kabe ekiweebwayo ekyokebwa, n'amusabira ekisonyiwo olw'ekisobyo kye yakola eky'okuliraana omufu. Omuntu oyo anaddangamu okuwonga omutwe gwe ku lunaku olwo lwennyini. Era anaawongeranga Mukama ebbanga eggere ly'alimala nga amwewongedde, n'aleeta endiga ento ennume ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'omusango. Naye ebbanga eryasooka linaabanga lifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka. “Lino lye tteeka erifuga omuwonge, ebbanga ery'okwewonga kwe bwe linaggwangako: ku lunaku lwe linaggwangako, anaaleetebwanga ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'awaayo ekitone kye eri Mukama kya nsolo ssatu ezitaliiko kamogo: endiga ento ennume ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo ekyokebwa; n'endiga ento enduusi ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi; era n'endiga ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'okutabagana. Era n'awaayo ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, n'obugaati obukoleddwa mu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, era n'emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa, egifukiddwako omuzigo ogw'emizayiti, era n'ebiweebwayo ebigenderako: eky'emmere ey'empeke, n'eky'ebyokunywa. “Kabona anaabyanjulanga eri Mukama, n'awaayo ekiweebwayo olw'ebibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa. N'atambira endiga ennume, ebe ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana, n'akiwaayo awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa. Kabona era anaawangayo ebiweebwayo ebigenderako: eky'emmere ey'empeke, n'eky'ebyokunywa. Olwo omuwonge anaamweranga omutwe gwe ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'addira enviiri ze, akabonero akalaga okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguliko ekitambiro eky'ekiweebwayo olw'okutabagana. “Kabona anaatwalanga omukono ogw'endiga ennume ogumaze okufumbibwa, era n'aggya mu kibbo akagaati kamu akatazimbulukusiddwa, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukusiddwa, byonna n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge amaze okwemwako enviiri eziraga okwewonga kwe. Kabona anaabiwuubanga bibe ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Ebyo, awamu n'ekifuba ekiwuubibwa era n'ekisambi ekisitulibwa, byayawulirwa kabona. Ebyo bwe biggwa, omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge. Eryo lye tteeka erinaafuganga omuntu eyeeyama okwewongera Mukama amweweere ddala okumala ekiseera, era lye linaafuganga ekitone ky'anaawangayo eri Mukama. Naye omuwonge bw'aneeyamanga okuwaayo eri Mukama ebisingawo, anaabiwangayo nga bw'anaabanga yeeyamye.” Mukama n'agamba Musa ategeeze Arooni ne batabani be nti bwe banaabanga basabira Abayisirayeli omukisa, banaagambanga bwe bati nti: “Mukama akuwe omukisa akukuume, Mukama akusanyukire, akukwatirwe ekisa; Mukama akutunuulize amaaso ag'ekisa, akuwe emirembe.” Mukama n'agamba nti: “Bwe batyo bwe banaakoowooleranga erinnya lyange ku Bayisirayeli, ne mpa Abayisirayeli omukisa.” Ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema Entukuvu, yagifukako omuzigo, n'agiwongera Mukama, awamu n'ebintu byonna ebikozesebwa mu yo. Era ne alutaari yagifukako omuzigo, n'agiwongera Mukama, awamu n'ebintu byonna ebikozesebwa ku yo. Awo abakulembeze ba Yisirayeli abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne batona. Be baali abakulu b'ebika, era be baakulira okubala abantu. Ne baleeta ekitone kyabwe mu maaso ga Mukama. Baaleeta amagaali mukaaga amabikkeko, nga buli bakulembeze babiri baleese eggaali limu ate nga buli mukulembeze aleese ente emu. Ne babyanjula mu maaso g'Eweema Entukuvu. Mukama n'agamba Musa nti: “Baggyeeko bye batonye, bikozesebwenga emirimu egy'okuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu. Era onoobikwasa Abaleevi, okusinziira ku ebyo buli bamu bye beetaaga okukozesa.” Musa n'addira amagaali n'ente, n'abikwasa Abaleevi. Amagaali abiri n'ente nnya, n'abikwasa Abagerusooni, ng'asinziira ku mulimu gwe baalina okukola. N'amagaali ana n'ente munaana n'abikwasa Abamerari, ng'asinziira ku mulimu gwe baalina okukola, nga bonna balabirirwa Yitamaari mutabani wa Arooni kabona. Naye bo Abakohati teyabawa, kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okulabiriranga, baabisituliranga ku bibegabega byabwe. Abakulembeze era ne baleeta ebitone olw'okuwonga alutaari ku lunaku lwe yafukibwako omuzigo, ne babiwaayo mu maaso ga alutaari. Mukama n'agamba Musa nti: “Olw'okuwonga alutaari, baleete ebitone byabwe buli mukulembeze ku lunaku lulwe.” Eyaleeta ekitone kye ku lunaku olusooka yali Nahusooni mutabani wa Amminadabu ow'omu Kika kya Yuda. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Nahusooni mutabani wa Amminadabu kye yawaayo. Ku lunaku olwokubiri, Netaneeli mutabani wa Zuwari era omukulu w'Ekika kya Yissakaari, n'awaayo. Bye yawaayo okuba ekitone kye byali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi, n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Netaneeli mutabani wa Zuwari kye yawaayo. Ku lunaku olwokusatu, Eliyaabu mutabani wa Heloni era omukulu w'Ekika kya Zebbulooni, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Eliyaabu mutabani wa Heloni kye yawaayo. Ku lunaku olwokuna, Elizuuri mutabani wa Sedewuri era omukulu w'Ekika kya Rewubeeni, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Elizuuri mutabani wa Sedewuri kye yawaayo. Ku lunaku olwokutaano, Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi era omukulu w'Ekika kya Simyoni, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi kye yawaayo. Ku lunaku olw'omukaaga, Eliyasaafu mutabani wa Deweli, era omukulu w'Ekika kya Gaadi, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Eliyasaafu mutabani wa Deweli kye yawaayo. Ku lunaku olw'omusanvu, Elisaama mutabani wa Ammihudi, era omukulu w'Ekika kya Efurayimu, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu, ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Elisaama mutabani wa Ammihudi kye yawaayo. Ku lunaku olw'omunaana, Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri, era omukulu w'Ekika kya Manasse, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri kye yawaayo. Ku lunaku olw'omwenda, Abidaani mutabani wa Gidiyoni, era omukulu w'Ekika kya Benyamiini, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Abidaani mutabani wa Gidiyoni kye yawaayo. Ku lunaku olw'ekkumi, Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi, era omukulu w'Ekika kya Daani, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi kye yawaayo. Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu, Pagiyeeli mutabani wa Okuraani, era omukulu w'Ekika kya Aseri, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Pagiyeeli mutabani wa Okuraani kye yawaayo. Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri, Ahira mutabani wa Enani, era omukulu w'Ekika kya Nafutaali, n'awaayo. Ekitone kye kyali olusaniya lumu olwa ffeeza, oluzitowa kilo nga emu n'ekitundu; ebbakuli emu eya ffeeza ekozesebwa mu kumansira, ezitowa gulaamu nga lunaana mu bipimo eby'omu Kifo Ekitukuvu, byombi nga bijjudde obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke; ekijiiko ekinene kimu ekya zaabu ekya gulaamu nga kikumi mu kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume emu ey'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ebibi; n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Ahira mutabani wa Enani kye yawaayo. Bino bye bitone ebyaweebwayo abakulembeze ba Yisirayeli olw'okuwonga alutaari, ku lunaku lwe yafukibwako omuzigo: ensaniya kkumi na bbiri eza ffeeza; ebbakuli kkumi na bbiri eza ffeeza ezikozesebwa mu kumansira; n'ebijiiko ebinene kkumi na bibiri ebya zaabu. Buli lusaniya olwa ffeeza nga luzitowa kilo ng'emu n'ekitundu, na buli bbakuli ng'ezitowa gulaamu nga lunaana. Ebintu byonna ebya ffeeza byaweza obuzito bwa kilo amakumi abiri mu musanvu ne gulaamu nga lukaaga, mu kipimo eky'omu Kifo Ekitukuvu. Ebijiiko ebinene byali kkumi na bibiri ebya zaabu ebijjudde obubaane, nga buli kimu kya gulaamu nga kikumi mu kkumi, mu kipimo eky'omu Kifo Ekitukuvu. Ebijiiko byonna ebinene ebya zaabu, byaweza obuzito bwa kilo emu ne gulaamu nga bisatu mu abiri. Ensolo zonna ez'ekiweebwayo ekyokebwa, zaali ente ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, endiga ento ennume ez'omwaka ogumu kkumi na bbiri, awamu n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke ebigenderako; era n'embuzi ennume kkumi na bbiri ez'ekiweebwayo olw'ebibi. Ate ensolo zonna ez'ekiweebwayo olw'okutabagana, zaali ente amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, n'endiga ento ennume ez'omwaka ogumu, nkaaga. Ebyo bye bitone bye baawaayo okuwonga alutaari ng'emaze okufukibwako omuzigo. Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama okwogera ne Mukama, n'awulira eddoboozi ery'oyo ayogera naye ng'asinziira waggulu w'entebe ey'obusaasizi eyali ku Ssanduuko ey'Endagaano, wakati wa bakerubi bombi. N'ayogera naye. Mukama n'agamba Musa nti: “Bw'onoobanga oteeka ettaala, ettaala omusanvu, ku kikondo kyazo, onoozitereezanga zimulise ebbanga eriri mu maaso g'ekikondo kyazo.” Arooni n'akola bw'atyo, n'atereeza ettaala ne zimulisa ebbanga eriri mu maaso g'ekikondo kyazo, nga Mukama bwe yalagira Musa. Ekikondo kyali kiweeseddwa, nga kyonna kya zaabu okuva ku kikolo kyakyo, okutuuka ku matabi gaakyo. Kyali kiweeseddwa okufaananira ddala ekyokulabirako Mukama kye yalaga Musa. Mukama n'agamba Musa nti: “Yawula Abaleevi mu Bayisirayeli abalala, obatukuze. Onoobatukuza bw'oti: onoobamansirako amazzi agaateekebwawo okunaazangako ebibi, beemwe omubiri gwonna, era booze engoye zaabwe, beetukuze. Ebyo nga biwedde, batwale ente emu ennume envubuka wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, bwe buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, era obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti. Naawe otwale ente endala ennume envubuka, eneeba ekiweebwayo olw'ebibi. Olwo onookuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, n'oleeta Abaleevi mu maaso g'Eweema ey'Okunsisinkanirangamu. Ng'omaze okuleeta Abaleevi mu maaso gange, Abayisirayeli ne balyoka bateeka emikono ku Baleevi abo, Arooni n'abampongera babe bange mu ngeri ey'enjawulo, ekitone ekivudde mu Bayisirayeli, Abaleevi bafuuke abaweereza bange. Abaleevi banaateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente, oziweeyo gyendi Nze Mukama: emu ebe ekiweebwayo olw'ebibi, n'eyookubiri, ebe ekiweebwayo ekyokebwa okusonyiyisa Abaleevi ebibi. “Abaleevi onoobateekawo baweerezenga Arooni ne batabani be, era onoobampongera Nze Mukama, babe bange mu ngeri ey'enjawulo. Bw'otyo bw'onoyawula Abaleevi mu Bayisirayeli abalala, Abaleevi babe bange. Ng'omaze okubatukuza n'okubampongera babe bange mu ngeri ey'enjawulo, Abaleevi banaasaanira okukolanga ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, kubanga bampeereddwa mu butongole okuva mu Bayisirayeli abalala. Mbeerobozezza babe bange mu kifo ky'abaggulanda ab'obulenzi b'Abayisirayeli abalala bonna. Abaggulanda bonna ab'obulenzi mu Bayisirayeli, bange, era na buli nsolo y'Abayisirayeli esooka okuzaalibwa, yange. Nabeeyawulira ku lunaku lwe nattirako abaggulanda bonna ab'obulenzi mu nsi y'e Misiri. Kaakano Abaleevi be ntutte mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'obulenzi mu Bayisirayeli. Nzigye Abaleevi mu Bayisirayeli abalala bonna, ne mbawaayo eri Arooni ne batabani be ng'ekirabo, bakolerenga Abayisirayeli omulimu gw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, era bawonyenga Abayisirayeli akabi akandibatuusengako singa basemberera Ekifo Ekitukuvu.” Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli bwe batyo bwe baakola ku Baleevi. Baatuukiriza byonna Mukama bye yalagira Musa okukola ku Baleevi. Abaleevi ne beetukuza, ne booza engoye zaabwe; Arooni n'abawonga eri Mukama, babeere babe mu ngeri ey'enjawulo, era n'akola omukolo ogw'okubasonyiyisa ebibi, n'abatukuza. Abayisirayeli ne bakola byonna Mukama bye yalagira Musa okukola ku Baleevi. Ebyo bwe byaggwa, Abaleevi ne basaanira okukolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga balabirirwa Arooni ne batabani be. Mukama n'ayogera ne Musa ng'agamba nti: “Lino lye tteeka ku Baleevi: Abawezezza emyaka amakumi abiri mu etaano n'okusingawo, be banaakolanga omulimu ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu. Naye bwe banaawezanga emyaka amakumi ataano, banaalekeranga awo okukola omulimu gw'obuweereza, ne bawummula. Banaayinzanga okuyamba ku Baleevi bannaabwe, nga babalagirira okutuukiriza omulimu gwabwe ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, naye bo tebaakolenga mulimu. Bw'otyo bw'onootegeka Abaleevi okutuukirizanga omulimu gwabwe.” Mu mwezi ogusooka mu mwaka ogwokubiri ng'Abayisirayeli bavudde mu nsi y'e Misiri, Mukama n'ayogera ne Musa mu Ddungu ly'e Sinaayi ng'agamba nti: “Abayisirayeli era bategeke Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ebeerewo mu biseera byayo ebyalagirwa. Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, mugitegeke ebeerewo mu biseera byayo ebyalagirwa, nga mugoberera amateeka gaayo gonna n'obulombolombo bwayo bwonna.” Musa n'agamba Abayisirayeli okutegeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ne bagitegeka n'ebaawo mu Ddungu ly'e Sinaayi, akawungeezi, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka, nga bagoberera byonna Mukama bye yalagira Musa. Naye ne wabaawo abantu abataali balongoofu kubanga baali bakutte ku mufu, ne batayinza ku lunaku olwo kukola mikolo gya Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ne bajja mu maaso ga Musa ne Arooni ku lunaku olwo, ne bagamba nti: “Tetuli balongoofu, kubanga twakutte ku mufu. Naye tuyinza okukkirizibwa okuweerayo awamu ne Bayisirayeli bannaffe ekitone eri Mukama, mu biseera byakyo ebyalagirwa?” Musa n'abaddamu nti: “Musooke mulindeko mmale okuwulira Mukama ky'anaalagira ku mmwe.” Mukama n'agamba Musa agambe Abayisirayeli nti: “Abamu mu mmwe, oba mu bazzukulu bammwe, bwe bataabenga balongoofu olw'okukwata ku mufu, oba bwe banaabeeranga mu lugendo ewala, banaayinzanga okuwaayo eri Mukama ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Banaakiwangayo mu mwezi ogwokubiri, akawungeezi, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya. Banaakiriirangako migaati egitazimbulukusiddwa, n'enva endiirwa ezikaawa. “Tebaabengako kye basigazaawo okutuuka enkeera, era ensolo gye basse okulya, tebaagimenyenga ggumba na limu. Banaakuumanga amateeka gonna ag'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne bagatuukiriza. Naye omulongoofu era nga tali mu lugendo, anaalemwanga okuwaayo ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako anaaboolebwanga mu bantu be, kubanga tawadde Mukama kitone mu kiseera kyakyo ekyalagirwa. Omuntu oyo anaavunaanibwanga olw'ebibi bye. “Era omugwira abeera mu mmwe anaayagalanga okuwaayo eri Mukama ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, anaatuukirizanga etteeka ly'embaga eyo era n'obulombolombo bwayo. Etteeka eryo linaabanga lye limu ku mugwira ne ku muzaaliranwa.” Ku lunaku Eweema Entukuvu, Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi, ekire ne kiba ng'omuliro okutuusiza ddala ku makya. Bwe kityo bwe kyabanga bulijjo. Ekire kyagibikkanga emisana, ate ekiro ne kifaanana ng'omuliro. Ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, Abayisirayeli ne batandika okutambula. Mu kifo we kyayimiriranga, awo we baasiisiranga. Abayisirayeli baatambulanga nga Mukama amaze kubalagira, era baasiisiranga ng'amaze kubalagira. Ekiseera kyonna ekire kye kyabeeranga ku Weema Entukuvu, baasigalanga mu lusiisira. Era ekire bwe kyamalanga ennaku ennyingi nga kiri ku Weema Entukuvu, Abayisirayeli baagonderanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula. Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku Weema Entukuvu. Era nabo baagonderanga ekiragiro kya Mukama, ne basigala mu lusiisira. Bwe yabalagiranga okutambula, nga batambula. Era oluusi ekire kyabangawo okuva akawungeezi okutuusa ku makya. Bwe kyaggyibwangawo ku makya, ne batambula. Oba bwe kyabangawo emisana n'ekiro, era kyamalanga kuggyibwawo ne balyoka batambula. Ekire ne bwe kyamalanga ku Weema Entukuvu ennaku ebbiri, oba omwezi, oba okusingawo, Abayisirayeli nga basigala mu lusiisira, ne batatambula. Naye bwe kyaggyibwangawo, nga batambula. Baasiisiranga, era baatambulanga, nga bakolera ku kiragiro kya Mukama, kye yabawanga ng'ayita mu Musa. Mukama n'agamba Musa nti: “Kola amakondeere abiri aga ffeeza, ogaweese, ogakozesenga okuyita abantu okukuŋŋaana, n'okubalagira okuva mu lusiisira okutambula. Bwe banaagafuuwanga gombi, ekibiina kyonna kinaakunŋŋaaniranga w'oli, ku mulyango gw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu. Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze bokka, abakulu b'Ebika bya Yisirayeli, be banaakuŋŋaaniranga w'oli. Bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ab'omu nsiisira eziri ku ludda olw'ebugwanjuba banaatandikanga okutambula. Bwe munaagafuuwanga omulundi ogwokubiri nga musirisaamu, ab'omu nsiisira eziri ku ludda olw'ebukiikaddyo banaatandikanga okutambula. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu, olw'okulagira abantu okutambula. Naye bwe kunaabanga okuyita abantu okukuŋŋaana, munaagafuuwanga naye nga temusirisaamu. Bakabona ab'olulyo lw'Arooni be banaafuuwanga amakondeere ago. Ekiragiro ekyo munaakikuumanga ennaku zonna. Era mu nsi yammwe bwe munaatabaalanga olutalo okwetaasaako abalabe ababali obubi, kale munaafuuwanga amakondeere ago nga musirisaamu, Nze Mukama Katonda wammwe ne ndyoka mbajjukira mmwe, ne mbawonya abalabe bammwe. Ne mu biseera byammwe eby'okusanyuka, ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, era ne ku ntandikwa ya buli mwezi, munaafuuwanga amakondeere ago nga muwaayo ebitone byammwe ebyokebwa, n'ebitambiro bye muwaayo olw'okutabagana. Olwo Nze Mukama Katonda wammwe nnaabajjukiranga mmwe, ne mbayamba.” Ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, okuva Abayisirayeli lwe baava e Misiri, ekire ne kiggyibwa waggulu wa Weema Entukuvu. Abayisirayeli ne batandika olugendo lwabwe olwabaggya mu Ddungu ly'e Sinaayi, ne batambulira mu bibinja byabwe. Ekire ne kiyimirira mu Ddungu ly'e Parani. Ne batandika okutambula, nga Mukama bwe yabalagira ng'ayita mu Musa. Aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Yuda ne bakulemberamu, nga bali mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Yuda, yali Nahusooni mutabani wa Amminadabu. Ekibinja ky'ab'Ekika kya Yissakaari, kyali kikulirwa Netaneeli, mutabani wa Zuwari. N'ekibinja ky'ab'Ekika kya Zebbulooni, kyali kikulirwa Eliyaabu, mutabani wa Heloni. Olwo Eweema Entukuvu n'esimbulibwa. Ab'olulyo lwa Gerusooni n'ab'olulyo lwa Merari ne bagisitula, ne batandika okutambula. Ne kuddako aba bbendera ey'olusiisira lwa Rewubeeni, nga batambulira mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Rewubeeni, yali Elizuuri mutabani wa Sedewuri. Ekibinja ky'ab'Ekika kya Simyoni, kyali kikulirwa Selumiyeeli, mutabani wa Zurisaddayi, n'ekibinja ky'ab'Ekika kya Gaadi, kyali kikulirwa Eliyasaafu, mutabani wa Deweli. Abakohati ne balyoka baddako, nga basitudde eby'omu Kifo Ekitukuvu. We baatuukiranga awanaaba olusiisira, nga Eweema emaze okusimbibwa. Ku abo, ne kuddako aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Efurayimu, nga batambulira mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Efurayimu, yali Elisaama mutabani wa Ammihudi. Ekibinja ky'ab'Ekika kya Manasse, kyali kikulirwa Gamaliyeeli, mutabani wa Pedazuuri, n'ab'ekibinja ky'ab'Ekika kya Benyamiini nga bakulirwa Abidaani, mutabani wa Gidiyoni. Awo aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Daani, abaakooberanga ebibinja byonna, ne balyoka batandika okutambula nga bali mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Daani, yali Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi. Ekibinja ky'ab'Ekika kya Aseri, kyali kikulirwa Pagiyeeli mutabani wa Okuraani, n'ekibinja ky'ab'Ekika kya Nafutaali nga kikulirwa Ahira mutabani, wa Enani. Eyo ye ngeri ebibinja Abayisirayeli bye baatambulirangamu gye byaddiriŋŋananga, bwe baabanga bava mu lusiisira olumu okudda mu lulala. Awo Musa n'agamba mukoddomi we Hobabu, mutabani wa Reweli Omumidiyaani nti: “Tutambula okugenda mu kifo, Mukama kye yagamba okutuwa. Mukama yasuubiza Yisirayeli ebirungi. Jjangu tugende ffenna, tuligabanira wamu naawe ebirungi ebyo.” Hobabu n'addamu nti: “Nze sijja kugenda. Nja kuddayo mu nsi y'ewaffe ne mu b'eŋŋanda zange.” Musa n'amuddamu nti: “Totuleka, nkwegayiridde, kubanga ggwe omanyi we tunaayinzanga okusiisira mu ddungu, era ggwe onoogendanga otulagirira. Kale bw'onoogenda naffe, ebirungi byonna Mukama by'anaatukoleranga, tunaabigabaniranga wamu naawe.” Ne bava ku lusozi lwa Katonda, ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu. Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama n'ebakulemberamu okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu. Bwe baatambulanga okuva mu lusiisira, ekire kya Mukama ne kibeera ku bo emisana. Essanduuko ey'Endagaano buli lwe yasitulwanga okutandika olugendo, Musa ng'agamba nti: “Situka, ayi Mukama, abalabe bo basaasaane, n'abakukyawa, badduke bave w'oli.” Era Essanduuko bwe yayimiriranga, ng'agamba nti: “Komawo, ayi Mukama, mu mitwalo n'emitwalo gy'Abayisirayeli. ” Awo abantu ne batandika okwemulugunyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako. Mukama bwe yawulira, n'asunguwala. Omuliro gwe ne gwaka mu bo, ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira. Abantu ne bakaabirira Musa abayambe. Musa ne yeegayirira Mukama, omuliro ne gukkakkana. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya “Okwaka”, kubanga omuliro gwa Mukama gwayaka mu bo. Awo ab'omu kibinja ky'abagwira abaali batambula n'Abayisirayeli, ne booya nnyo okulya ennyama. Abayisirayeli nabo ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye? Kale mazima tujjukira ebyennyanja bye twalyanga eby'obwereere e Misiri, ssaako wujju n'ensujju, n'obutungulu, ne katunguluccumu. Naye kaakano amaanyi gonna gatuweddemu. Tetukyalina kyakulya kye tulabako, wabula mannu eno yokka!” Mannu yali efaanana ng'obusigo bw'omuwemba, naye nga langi yaabwo njeru, ya mataatata. Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya, ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu, ne bagikolamu obugaati. Okuwooma kwayo kwali ng'okw'obugaati obusiikiddwa mu muzigo ogw'emizayiti. Ekiro omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira, mannu n'egwa ku gwo. Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala. Musa n'agamba Mukama nti: “Onnanga ki nze omuweereza wo, okumpisa obubi bw'oti? Lwaki tonsaasira? Lwaki ontikka obuvunaanyizibwa ku bantu bano bonna? Nze naba olubuto ne nzaala abantu bano bonna, olyoke oŋŋambe nti: ‘Basitule mu kifuba, ng'omulezi bw'asitula omwana ayonka’, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajjaabwe? Ŋŋenda kuggya wa ennyama okuwa abantu bano bonna? Baabano bankaabirira nga bagamba nti: ‘Tuwe ennyama tulye.’ Sirina bwe nnyinza kwetikka buvunaanyizibwa bwa bantu bano bonna nzekka. Ekyo kinzitooweredde nnyo. Oba nga bw'oti bw'ogenda okumpisa, nkwegayiridde waakiri nzita mangu kaakano, nneme okubonaabona bwe nti.” Mukama n'agamba Musa nti: “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu, abassibwamu ekitiibwa mu Yisirayeli, b'omanyi nga bakungu, era nga bakulembeze ba bantu, obaleete ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe. Nze nja kukka njogerere eyo naawe. Era nja kutoolako ku Mwoyo ali ku ggwe, mmuteeke ku bo, balyoke bakuyambengako ku buvunaanyizibwa obw'okulabirira abantu, bulemenga kubeera ku ggwe wekka. Kaakano gamba abantu nti: ‘Mwetukuze okwetegekera olunaku olwenkya. Mujja kulya ennyama. Mukama awulidde bwe mukaaba nga mwebuuza anaabawa ennyama mulye, nga mugamba nti mwali bulungi mu Misiri. Kale Mukama anaabawa ennyama ne mulya. Temujja kugiriira lunaku lumu oba bbiri, nnaku ttaano oba kkumi, wadde amakumi abiri, naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe ne muginyiwa, kubanga mwesammudde Mukama ali mu mmwe, ne mwemulugunyiza mu maaso ge nga mugamba nti mwaviira ki mu Misiri!’ ” Musa n'agamba nti: “Abantu be ndi nabo bawera abasajja emitwalo nkaaga. Ggwe n'ogamba nti onoobawa ennyama bagiriire omwezi mulamba? Waliwo amagana g'endiga n'ente agayinza okubattirwa ne gabamala? Ne bwe babakuŋŋaanyiza ebyennyanja byonna mu nnyanja, biyinza okubamala?” Mukama n'addamu Musa nti: “Obuyinza bwange buliko ekkomo? Kaakano ojja kulaba oba nga kye njogedde kinaatuukirira, oba nga tekiituukirire.” Musa n'afuluma, n'ategeeza abantu Mukama by'ayogedde. N'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ku bakulembeze b'abantu, n'abateekawo ne bayimirira okwetooloola Eweema. Mukama n'akkira mu kire, n'ayogera ne Musa. N'atoola ku Mwoyo eyali ku Musa, n'amuteeka ku bakulembeze ensanvu. Mwoyo olwakka ku bo, ne batandika okulanga, kyokka baakoma awo tebaddamu mulundi mulala. Naye ku bakulembeze ensanvu, babiri Elidaadi ne Meedaadi baali basigadde mu lusiisira, nga tebafulumye kujja ku Weema. Mwoyo n'akka ku bo, ne batandika okulanga nga bali mu lusiisira. Ne wabaawo omulenzi eyadduka n'agenda abuulira Musa nti: “Elidaadi ne Meedaadi bali eri mu lusiisira balanga.” Omuweereza wa Musa, era omu ku basajja be abalondemu, ayitibwa Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'addamu ng'agamba nti: “Mukama wange Musa, bagaane!” Musa n'amuddamu nti: “Olumirwa nnyo ekitiibwa kyange? Nze nandyagadde, Mukama abantu be bonna abawe Mwoyo we, babe balanzi.” Awo Musa n'abakulembeze ensanvu ne baddayo mu lusiisira. Mukama n'asindika embuyaga, n'ereeta entiitiri okuva ku nnyanja, nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mita emu okuva ku ttaka, ne zigwa kumpi n'olusiisira okulwetooloola, ne zibuna mu kibangirizi ekya kilomita eziwerako ku buli ludda. Abantu ne basituka ne bagenda olunaku olwo lwonna n'ekiro kyonna, n'olunaku lwonna olwaddirira, ne bakuŋŋaanya entiitiri. Eyakuŋŋaanya entono yaweza kilo ng'enkumi bbiri. Ne bazaanika wonna wonna okwetooloola olusiisira. Bwe baali batandise okulya ennyama eyo kyokka nga tebannagimalawo, Mukama n'abasunguwalira nnyo, n'abasuulamu obulwadde obw'amaanyi. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya “Entaana z'Okwoya”, kubanga mwe baaziika abantu abaayoya ennyama. Abayisirayeli bwe baava mu kifo ekyo, kye baatuuma “Entaana z'Okwoya”, ne bagenda e Hazerooti, ne basiisira eyo. Musa yawasa omukazi Mukuusi. Miriyamu ne Arooni ne boogera bubi ku Musa, nga bamulanga omukazi oyo. Ne bagamba nti: “Mukama ayogera ng'ayita mu Musa yekka? Teyayogera ng'ayita ne mu ffe?” Mukama n'awulira kye boogedde. Omusajja Musa yali mwetoowaze nnyo okusinga abantu abalala bonna ku nsi. Amangwago Mukama n'ayogera ne Musa ne Arooni ne Miriyamu nti: “Mwensatule mugende ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu.” Bonsatule ne bagenda. Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'Eweema, n'ayita Arooni ne Miriyamu. Bombi ne bagenda. Mukama n'agamba nti: “Muwulire kye ŋŋamba. Bwe wabaawo omulanzi mu mmwe, Nze Mukama mmweyolekera mu kulabikirwa, era njogera naye mu birooto. Naye ku muweereza wange Musa, si bwe kiri. Sirina kye mmukisa, kubanga mwesigwa. Ye njogera naye nga tutunuuliganye maaso na maaso, era butereevu sso si mu ngero. Era ye yali alabye ne bwe nfaanana. Kale muyinza mutya obutatya kwogera bubi ku muweereza wange oyo Musa?” Awo Mukama n'abasunguwalira, era n'avaawo. Ekire ne kiva ku Weema. Okutemya n'okuzibula, Miriyamu n'alwalirawo endwadde y'olususu etiisa, n'ayeruka ng'omuzira. Arooni bwe yakyuka n'atunula ku Miriyamu, n'alaba nga Miriyamu akwatiddwa endwadde y'olususu etiisa. N'agamba Musa nti: “Ayi mukama wange, nkwegayiridde, ekibi ekyo kitusonyiwe. Bye tukoze bya busirusiru, era gutusinze. Nkwegayiridde, ono tomuleka kuba nga muntu azaalibwa ng'afudde, n'omubiri gwe nga guvunzeeko ekitundu.” Musa n'akaabirira Mukama nti: “Ayi Katonda, nkwegayiridde, muwonye!” Mukama n'agamba Musa nti: “Singa kitaawe ye abadde amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde n'obuswavu okumala ennaku musanvu? Kale aggalirwe ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu, n'oluvannyuma balyoke bamukomyewo ayingire.” Bw'atyo Miriyamu n'aggalirwa ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Abantu ne batatambula okutuusa lwe baamukomyawo n'ayingira. Olwo ne bava e Hazerooti, ne batambula, ne basiisira mu Ddungu ly'e Parani. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Tuma abantu bagende bakette ensi y'e Kanaani gye mpa Abayisirayeli. Munaatuma omuntu omu okuva mu buli kika, era omuntu oyo nga mukulembeze mu kika kye.” Nga bali mu ddungu ly'e Parani, Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. N'atuma abasajja nga bonna bakulembeze ba bika by'Abayisirayeli. Amannya g'abaatumibwa ge gano: ow'omu Kika kya Rewubeeni, Sammuwa mutabani wa Zakkuri; ow'omu Kika kya Simyoni, Safaati mutabani wa Hoori; ow'omu Kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefunne; ow'omu Kika kya Yissakaari, Yigali mutabani wa Yosefu; ow'omu Kika kya Efurayimu, Hoseya mutabani wa Nuuni; ow'omu Kika kya Benyamiini, Paluti mutabani wa Raama; ow'omu Kika kya Zebbulooni, Gadiyeeli mutabani wa Soodi; ow'omu Kika kya Yosefu, kye Kika kya Manasse, Gaddi mutabani wa Suusi; ow'omu Kika kya Daani, Ammiyeeli mutabani wa Gemalli; ow'omu Kika kya Aseri, Seturi mutabani wa Mikayeli; ow'omu Kika kya Nafutaali, Nahubi mutabani wa Vofusi; ow'omu Kika kya Gaadi, Geweli mutabani wa Maaki. Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo. Musa n'atuuma Hoseya, mutabani wa Nuuni, erinnya Yoswa. Musa n'abatuma okuketta ensi ye Kanaani. N'abagamba nti: “Mwambuke, muyite mu nsi enkalu, mweyongereyo mu nsozi. Mulabe ensi eyo nga bw'eri, n'abantu abagirimu oba nga bangi, oba nga batono, oba nga ba maanyi, oba nga banafu. Mulabe oba ng'ensi eyo gye balimu nnungi oba nga mbi. Mwetegereze oba nga babeera mu nsiisira, oba mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu. Mwekkaanye oba nga ensi eyo ngimu oba nkalu, oba nga mulimu emiti, oba nga temuli. Era mufube okuleeta ku bibala byamu.” Ekiseera ekyo kyali kya mizabbibu we gisookera okwengera. Ne bambuka ne baketta ensi eyo, okuva ku ddungu ly'e Ziini okutuuka e Rehobu awayingirirwa e Hamati. Ne bambuka ne bayita mu nsi enkalu, ne batuuka mu Heburooni. Eyo nno Abahimani, n'Abasesayi, n'Abatalumayi, bazzukulu ba Anaki gye baali. (Heburooni kyali kimaze emyaka musanvu nga kizimbiddwa, ne Zowani eky'e Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa). Ne batuuka mu Kiwonvu ky'Ekirimba, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu eky'emizabbibu, abantu babiri balamba ne bakireeta nga bakisitulidde ku muti. Ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku bibala by'emitiini. Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya “Ekiwonvu ky'Ekirimba,” olw'ekirimba Abayisirayeli kye baatemayo. Abakessi ne bakomawo nga wayiseewo ennaku amakumi ana, ze baamala nga baketta ensi eyo. Ne bajja eri Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli e Kadesi mu ddungu ly'e Parani, ne babategeeza bye baalaba, ne babalaga ebibala bye baaleta. Ne battottolera Musa nti: “Twatuuka mu nsi gye watutumamu. Mazima nsi ngimu era ngagga, era bino bye bibala byamu. Naye abantu ababeera mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe binene nnyo era biriko ebigo ebigumu. N'ekirala, twalabayo bazzukulu ba Anaki. Abamaleki be bali mu kitundu ekikalu eky'ensi eyo, Abahiiti n'Abayebusi n'Abaamori, be bali ku nsozi, ate Abakanaani be bali okumpi n'ennyanja, ne ku lubalama lw'Omugga Yorudaani.” Kalebu n'asirisa abantu abaali bakuŋŋaanidde awali Musa, n'agamba nti: “Twambuke awatali kulwa tuwambe ensi eyo, kubanga tusobolera ddala okugiwangula.” Kyokka abantu abaagendayo naye ne bagamba nti: “Tetuyinza kwaŋŋanga kulwanyisa bantu bali, kubanga batusinga nnyo amaanyi.” Ne basaasaanya mu Bayisirayeli ebigambo ebibi eby'obulimba ebifa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti: “Ensi gye twayitamu nga tugiketta, nsi nkalu, etebaza mmere emala okusobola okubeezaawo abantu abagibeeramu, n'abantu bonna be twalabayo, bantu bawanvu nnyo. Era twalabayo abantu abawagguufu, Abaanaki abasibuka mu Banefiri. Tweraba nga tuli basirikitu nga nseenene, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.” Abakessi ekkumi n'ababiri abaaketta ensi y'e Kanaani bwe baamala okuwa obubaka bwabwe, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kireekaana, abantu ne bakaaba amaziga ekiro ekyo kyonna. Ne beemulugunyiza Musa ne Arooni, ekibiina kyonna ne kigamba nti: “Singa nno twafiira mu nsi y'e Misiri, oba waakiri mu ddungu muno! Lwaki Mukama atuleeta mu nsi eno? Tujja kuttirwa mu lutalo, bakazi baffe n'abaana baffe abato banyagibwe. Tekyanditusingiddeko obulungi okuddayo e Misiri?” Ne bagambagana nti: “Tulonde omukulembeze, tuddeyo e Misiri.” Awo Musa ne Arooni ne bavuunamira ddala ku ttaka, mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli. Yoswa mutabani wa Nuuni, ne Kalebu mutabani wa Yefunne, abaali mu abo abaaketta ensi eyo, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne beecwacwana, ne bategeeza ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Ensi gye twayitamu ne tugiketta, nsi mpitirivu obulungi. Oba nga Mukama atusiima, ajja kutuyingiza mu nsi eyo engimu era engagga, agituwe. Ekikulu, muleme kujeemera Mukama, wadde okutya abantu abali mu nsi eyo, kubanga kijja kutwanguyira okubawangula, nga bwe twanguyirwa okulya emmere. Bo ekibadde kibakuuma, kimaze okubaggyibwako, naye ffe Mukama ali wamu naffe. N'olwekyo temubatya.” Ekibiina kyonna ne kigamba okubakuba amayinja. Naye mu kaseera ako, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira Abayisirayeli bonna ku Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Mukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano balituusa wa okunnyooma? Era balituusa wa obutanneesiga, wadde nga nkoze ebyewuunyo ebyo byonna mu bo? Nja kubasindikamu kawumpuli mbazikirize, nsibuse mu ggwe eggwanga eddene era ery'amaanyi okusinga bo bwe bali.” Naye Musa n'agamba Mukama nti: “Ggwe waggya abantu bano e Misiri, ng'okozesa obuyinza bwo. Abamisiri bwe baliwulira ky'okoze abantu bo, balikibuulira abantu ababeera mu nsi eno. Sso nga bano baamala dda okuwulira nga Ggwe, ayi Mukama, oli wamu n'abantu bano, era nti obalabikira mu lwatu, ekire kyo bwe kiyimirira waggulu ku bo, era ng'obakulembera mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro. Kale bw'onotta abantu bo bano bonna n'obamalawo, ab'amawanga amalala abaawulira ettutumu lyo, baligamba nti: ‘Mukama yalemwa okutuusa abantu bano mu nsi gye yabalayirira okubawa, kyeyava abattira mu ddungu.’ Kale kaakano nkwegayiridde, ayi Mukama, laga obuyinza bwo obungi, okole kye wasuubiza bwe wagamba nti: ‘Nze Mukama, ndwawo okusunguwala, nnina okwagala kungi, nsonyiwa ebibi n'obujeemu, naye sirema kubonereza muntu olw'omusango gw'azzizza. Era mbonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna olw'ebibi by'abazadde baabwe.’ Nkwegayiridde sonyiwa ebibi by'abantu bano olw'okusaasira kwo okungi, era nga bw'obadde obasonyiwa okuva lwe baava mu Misiri n'okutuusa kaakano.” Mukama n'addamu nti: “Mbasonyiye, nga bw'onsabye. Naye mazima ddala, Nze Mukama ndayira nti nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi yonna bw'ejjula ekitiibwa kyange, kale ku bantu abo abaalaba ekitiibwa kyange n'ebyewuunyo bye nakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bantawaanya emirundi n'emirundi, era ne banjeemera, mazima tewaliba n'omu ku bo, abo abannyooma, aliraba nsi gye nalayirira bajjajjaabwe. Kyokka omuweereza wange Kalebu, kubanga ye endowooza ye ya njawulo, era annywereddeko n'omutima gwe gwonna, ndimutuusa mu nsi gye yalambula, era ezzadde lye lirigiweebwa. Abamaleki n'Abakanaani nga bwe bali mu kiwonvu, enkya mukyuke mutambule mu ddungu, mu kkubo eridda ku Nnyanja Emmyufu.” Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Ekibiina kino eky'abantu ababi kirituusa wa okunneemulugunyiza? Nkooye okuwulira okwemulugunya kw'Abayisirayeli kwe banneemulugunyiza. Mubagambe nti: ‘Nze Mukama ndayira nti nga bwe Ndi omulamu, nja kubakolako nga bwe mpulidde ebyo mmwe mwennyini bye mwogedde. Mujja kufa, emirambo gyammwe gigwe mu ddungu muno. Abo bonna mu mmwe, abaabalibwa nga bawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abanneemulugunyizza, mazima tebalituuka mu nsi gye nneerayirira okubawa okubeerangamu, wabula Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, be bokka abaligituukamu. Naye abaana bammwe abato be mugambye nti bajja kunyagibwa, be ndiyingiza mu nsi eyo mmwe gye munyoomye, era be baligyeyagaliramu. Naye mmwe, emirambo gyammwe gya kugwa mu ddungu lino. Abaana bammwe balibungeetera mu ddungu emyaka amakumi ana, nga babonaabona olw'obutali bwesigwa bwammwe, okutuusa lwe mulifiira mu ddungu ne muggwaawo. Mulibonaabona okumala emyaka amakumi ana olw'ebibi byammwe. Buli lunaku ku nnaku amakumi ana ze mwamala nga muketta ensi eyo, mulirusasulamu omwaka mulamba, mulyoke mutegeere nga nabaabulira. Nze Mukama njogedde. Mazima ekyo nja kukikola ku b'Eggwanga lino lyonna ebbi, abakuŋŋaanye okumpakanya. Mu ddungu lino tebalivaamu. Bonna mwe balifiira.’ ” Abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo abaakomawo ne bagyogerako ebigambo ebibi eby'obulimba ebyaleetera ekibiina kyonna okwemulugunyiza Mukama, abantu abo abaayogera ebigambo ebibi eby'obulimba ku nsi eyo, ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama. Naye Yoswa mutabani wa Nuuni, ne Kalebu mutabani wa Yefunne, be baasigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi eyo. Awo Musa n'abuulira Abayisirayeli bonna ebyo Mukama by'agambye. Abantu ne banyolwa nnyo. Enkeera, ne bazuukuka ku makya, ne bagenda okulumba ensi ey'ensozi, nga bagamba nti: “Laba tuutuno twetegese okwambuka okugenda mu kifo Mukama kye yasuubiza. Tutegedde nga twakoze kibi.” Musa n'agamba nti: “Lwaki kaakano mujeemera ekiragiro kya Mukama? Temujja kuwangula. Temugenda, kubanga Mukama tali wamu nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula mmwe. Bwe munaasisinkanirayo n'Abamaleki era n'Abakanaani, mujja kuttirwa mu lutalo. Mukama tajja kuba wamu nammwe, kubanga mwamweggyako, ne mugaana okumugoberera.” Naye bo ne beerema, ne bambuka mu nsi ey'ensozi, newaakubadde ng'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, wadde Musa, teyava mu lusiisira. Awo Abamaleki n'Abakanaani abatuuze b'omu nsi eyo ey'ensozi, ne bakkirira, ne bakuba nnyo Abayisirayeli, ne babawondera okutuusa e Horuma. Mukama n'agamba Musa nti: “Yogera n'Abayisirayeli, obagambe nti: ‘Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye ŋŋenda okubawa okubeerangamu, ne mwagala okutoola ku nte, ne ku ndiga ne mbuzi zammwe, okuntonera Nze Mukama ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo mu kweyagalira, oba ku nnaku zammwe enkulu ezaateekebwawo, akawoowo k'ebyokulya ebyo, kansanyusa Nze Mukama. Oyo antonera Nze Mukama ekitone kye eky'engeri eyo, anaakiwangayo wamu ne kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita y'omuzigo ogw'emizayiti, nga kye kiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Anaawangayo ne lita y'omwenge gw'emizabbibu, nga kye kiweebwayo eky'ebyokunywa. Ebyo bye munaategekanga bigendere wamu na buli kiweebwayo ekyokebwa, oba ekitambiro eky'endiga ento. “Oba nga endiga ennume ye eweebwayo, munaategekanga kilo bbiri ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, nga butabuddwamu lita emu n'ekitundu ey'omuzigo ogw'emizayiti, ebyo ne biba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Era munaawangayo lita emu n'ekitundu ey'omwenge ogw'emizabbibu, nga kye kiweebwayo eky'ebyokunywa. Akawoowo kaakyo kansanyusa Nze Mukama. “Bwe munaategekanga okuntonera, Nze Mukama, ente ebe ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, okutuukiriza obweyamo, oba ebe ekiweebwayo olw'okutabagana, omuntu anaagiweerangayo wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, kya kilo ssatu ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita bbiri ez'omuzigo ogw'emizayiti. Era munaawangayo n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa kya lita bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu. Akawoowo k'ekitambiro ekyo kansanyusa Nze Mukama. “Ebyo bye binaaweebwangayo nga muwaayo buli nte ennume, oba buli ndiga ennume, oba buli ndiga ento, oba embuzi. Obungi bw'ebintu ebyo ebigenderako buneeyongeranga okusinziira ku bungi bw'ensolo ze munaategekanga okuwaayo. Bannansi bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaabanga bawaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama. N'omugwira abeera mu mmwe okumala akabanga oba ebbanga lyonna, bw'anaabanga ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama, anaakoleranga ddala nga mmwe bwe mukola. Mu kibiina munaabangamu amateeka ge gamu agafuga mmwe, n'abagwira ababeera mu mmwe, era amateeka ago tegaakyukenga ennaku zonna. Mmwe, n'abagwira abo, munaayisibwanga bumu mu maaso ga Mukama. Amateeka n'obulombolombo binaabanga bye bimu ebibafuga mmwe, n'abagwira ababeera mu mmwe.” Mukama era n'agamba Musa ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwalamu, ekiseera ne kituuka ne mulya ku mmere erimiddwa mu nsi eyo, mulyawuzaako ekitundu, kibe ekitone ekyenjawulo kye muntonera, Nze Mukama. Ku ŋŋaano gye musooka okukanda, munaggyangako omugaati ne muguwaayo, gube ekitone ekyenjawulo. Mu biseera byammwe byonna eby'omu maaso, ku ŋŋaano yammwe gye musooka okukanda, munaggyangako ekiweebwayo ekyenjawulo ne mukintonera, Nze Mukama. “Naye oboolyawo munaayinzanga okusobya mu butali bugenderevu, ne mutatuukiriza biragiro bino byonna, Nze Mukama bye ntegeezezza Musa. Era oboolyawo gye bujja, munaayinzanga okulemwa okukola byonna, Nze Mukama bye nalagira nga mpita mu Musa. Bwe munaabanga mukikoze nga temugenderedde, olw'okuba ng'ekibiina kibadde tekimanyi kiteekwa kukolebwa, ekibiina kyonna kinaawangayo ente ennume emu envubuka, n'eba ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyakwo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako ng'etteeka bwe liragira, era n'embuzi emu ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Kabona anaasabiranga ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ekisonyiwo, era banaasonyiyibwanga, kubanga ekisobyo ekyo tekyali kigenderere, era banaabanga bandeetedde Nze Mukama ekitone kyabwe eky'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ebibi olw'ekisobyo ekyo. Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli n'abagwira ababeera mu bo, kinaasonyiyibwanga, kubanga bonna banaabanga bakoze ensobi eyo nga si ŋŋenderere. “Omuntu bw'anaakolanga ekibi nga tagenderedde, anaawangayo embuzi enduusi ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Omuntu oyo akoze ekibi nga tagenderedde, kabona anaamusabiranga ekisonyiwo gye ndi Nze Mukama, n'asonyiyibwa. Munaabeeranga n'amateeka ge gamu agafuga buli akola ekibi nga tagenderedde, k'abe omuzaaliranwa Omuyisirayeli, oba omugwira abeera mu Bayisirayeli. “Naye buli anaakolanga ekibi ng'agenderedde, k'abe omuzaaliranwa oba omugwira, oyo anaabanga anyoomodde Mukama, era anaaboolebwanga mu bantu be, kubanga anaabanga anyoomye ekigambo kyange Nze Mukama, era ng'amenye ekiragiro kyange, ne yeesingisa yekka omusango, n'aboolebwa.” Lwali lumu Abayisirayeli nga bakyali mu ddungu, ne wabaawo omuntu eyasangibwa ng'alonderera obuku ku lunaku lwa Sabbaato. Abo abaamusanga ne bamuleeta eri Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna, n'akuumibwa nga musibe, kubanga baali tebannamanya kya kumukolera. Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Omuntu oyo ateekwa okuttibwa. Ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira.” Ekibiina kyonna ne kimufulumya ebweru w'olusiisira, ne kimukuba amayinja n'afa, nga Mukama bwe yalagira Musa. Mukama n'agamba Musa ayogere n'Abayisirayeli, abalagire nti: “Mutungenga bulijjo ebijwenge ku mikugiro gy'ebyambalo byammwe, era ku bijwenge ebiri ku buli mukugiro, muteekengako akawuzi aka bbululu. Ebijwenge ebyo bibabeererenga akabonero akabajjukiza: buli lwe munaabirabanga, mujjukirenga ebiragiro byange byonna, mutuukirizenga kye biragira, mulemenga okunvaako okugoberera ebyo emitima gyammwe n'amaaso gammwe bye bibaleetera okwegomba. Olwo mujjukirenga ebiragiro byange byonna, era mutuukirizenga kye biragira, mulyoke mubeererenga ddala bange. Nze Mukama, Nze Katonda wammwe. Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke mbe Katonda wammwe. Nze Mukama, Nze Katonda wammwe.” Awo Koora mutabani wa Yizuhaari, Yizuhaari mutabani wa Kohati asibuka mu Leevi, ng'ali wamu ne Datani ne Abiraamu batabani ba Eliyaabu, ne Oni mutabani wa Peleti, ab'omu Kika kya Rewubeeni, ne bawakanya obukulembeze bwa Musa. Ne beegattibwako Abayisirayeli abalala ebikumi bibiri mu ataano, abantu abatutumufu era abakulembeze abaalondebwa mu kibiina. Ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne Arooni, ne babagamba nti: “Muyitirizza okwekuza. Abantu b'Eggwanga lino bonna ba Mukama, era Mukama ali wamu nabo. Kale, lwaki mwegulumiza ku bantu b'Eggwanga lya Mukama?” Awo Musa bwe yakiwulira, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise. Awo n'agamba Koora ne banne bonna nti: “Enkya ku makya Mukama anaatulaga owuwe gw'alonze. Oyo owuwe gw'anaalonda, anaamuleka n'asembera gy'ali. Kino kye munaakola: ggwe Koora, ne banno bonna, munaakwata ebyoterezo enkya, ne mubiteekamu omuliro, ne muteekako obubaane nga muli mu maaso ga Mukama. Olwo oyo Mukama gw'analonda, nga ye wuwe. Muyitirizza okwekuza mmwe Abaleevi.” Musa n'agamba Koora nti: “Muwulire mmwe Abaleevi! Mukiyita kitono, Katonda wa Yisirayeli okubaawula mmwe mu kibiina ky'Abayisirayeli okubasembeza gy'ali, okukolanga omulimu ogw'obuweereza mu Weema ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okukiweereza? Mukama yakuwa ggwe ne Baleevi banno bonna ekitiibwa ekyo, era munoonya n'obwakabona? Mu butuufu, ggwe ne banno bonna, Mukama gwe mujeemedde, kubanga Arooni ye ani, mmwe mulyoke mumwemulugunyize?” Musa n'atumya Datani ne Abiraamu batabani ba Eliyaabu. Abo b'atumizza ne bagamba nti: “Tetujja kujja. Tekimala okuba nti watuggya mu nsi engimu era engagga, n'otuleeta okututtira mu ddungu? Era oyagala n'okwefuula atufuga? N'ekirala, totutuusizza mu nsi engimu era engagga, wadde okutuwa ebibanja n'ennimiro ez'emizabbibu okuba ezaffe! Kati abantu bano oyagala okubaziba amaaso? Tetujja kujja!” Awo Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Mukama nti: “Tokkiriza kitone kye bakuleetera. Sibaggyangako wadde endogoyi emu, era sirina n'omu ku bo gwe nali nkozeeko kabi.” Musa n'agamba Koora nti: “Ggwe ne banno bonna, enkya mujje mu maaso ga Mukama. Ne Arooni ajja kubaayo. Buli omu ku mmwe akwate ekyoterezo kye, akiteekeko obubaane, era buli omu akireete mu maaso ga Mukama, ebyoterezo ebikumi bibiri mu ataano, era naawe ne Arooni, buli omu n'ekyoterezo kye.” Awo buli omu n'akwata ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira wamu ne Musa ne Arooni ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Koora n'akuŋŋaanya ekibiina ky'abantu kyonna, ne kiyimirira nga kitunuulidde Musa ne Arooni ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna. Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Muve awali abantu bano, bo ndyoke mbazikirize mbagirawo!” Naye Musa ne Arooni ne bagamba nti: “Ayi Katonda, Ggwe osibukamu obulamu bwonna. Omuntu omu ng'akoze ekibi onoosunguwalira abantu bonna?” Mukama n'agamba Musa agambe abantu nti: “Muve okumpi n'eweema eya Koora, n'eya Datani, n'eya Abiraamu.” Musa n'asituka n'agenda ewa Datani ne Abiraamu. Abakulembeze b'Abayisirayeli ne bagenda naye. Musa n'agamba abantu nti: “Mbeegayiridde muve okumpi ne weema z'abantu abo ababi, sikulwa nga muzikirizibwa olw'ebibi byabwe.” Awo abantu ne beesega, ne babeera wala n'eweema ya Koora, n'eya Datani, n'eya Abiraamu ku njuyi zonna. Datani ne Abiraamu ne bafuluma, ne bayimirira ku miryango gy'eweema zaabwe, nga bali wamu ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe abakulu n'abato. Musa n'agamba nti: “Ku kino, kwe munaategeerera nga Mukama ye yantuma okukola emirimu gino gyonna, era nga sigikola nga nzigya mu kutetenkanya kwange. Abantu bano bwe balifa ng'abantu abalala bonna bwe bafa, oba bwe balituukibwako ekitalema kutuuka ku bantu bonna, kale nga Mukama si ye yantuma. Naye Mukama bw'anaakola ekitalabwangako, ettaka ne lyasama ne libamira wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka mu bunnya nga balamu, olwo munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.” Bwe yali amaliriza bw'ati okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka kwe baali ne lyegabanyaamu wabiri, ne libamira awamu n'eby'omu maka gaabwe, n'abagoberezi ba Koora bonna wamu n'ebyabwe byonna. Bwe batyo bo n'ebyabwe byonna ne beesolessa mu bunnya nga balamu, ettaka ne libasaanikira, ne basaanawo. Abayisirayeli bonna abaali beetoolodde abantu abo, bwe baawulira ebiwoobe byabwe, ne badduka nga baleekaana nti: “Lekooti, sikulwa nga naffe ettaka litumira!” Mukama n'asindika omuliro, ne gwokya abantu ebikumi ebibiri mu ataano, abaali booteza obubaane. Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Eleyazaari mutabani wa Arooni kabona, aggye ebyoterezo mu bintu ebyokeddwa, kubanga ebyoterezo ebyo bitukuvu, era asaasaanye amanda g'omuliro agabirimu. Ebyoterezo by'aboonoonyi abo abattiddwa olw'ebibi byabwe, bitukuvu, kubanga baabiwaddeyo eri Mukama. Ebyoterezo ebyo, biweesebwemu embaati, zibikkenga ku alutaari, zibeerenga akabonero akalabula Abayisirayeli.” Eleyazaari kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo ebyaweebwayo abo abookeddwa, ne biweesebwamu ekibikka ku alutaari, okujjukizanga Abayisirayeli nti buli muntu atali wa lulyo lwa Arooni, alemenga okusembera mu maaso ga Mukama okunyookeza obubaane, sikulwa ng'azikirizibwa nga Koora n'abagoberezi be. Ebyo byonna byakolebwa, nga Mukama bwe yagamba Eleyazaari, ng'ayita mu Musa. Ku lunaku olwaddako, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kyemulugunyiza Musa ne Arooni, nga kigamba nti: “Mwasse abantu ba Mukama.” Awo bonna bwe baali nga bakuŋŋaanidde ku Musa ne Arooni, ne bakyuka ne batunula awali Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne balaba ng'ekire kigibisse. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabika. Musa ne Arooni ne bajja mu maaso ga Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Mukama n'agamba Musa nti: “Muve mu bantu bano, bo ndyoke mbazikirize mbagirawo!” Musa ne Arooni ne beeyala ku ttaka nga beevuunise. Awo Musa n'agamba Arooni nti: “Kwata ekyoterezo kyo, oggye amanda g'omuliro ku alutaari ogateeke mu kyo, oteekeko obubaane, okitwale mangu mu bantu, obasabire ekisonyiwo, kubanga Mukama asunguwadde, kawumpuli atandise.” Arooni n'atwala ekyoterezo kye nga Musa bwe yamulagira, n'adduka n'agenda mu bantu, n'asanga nga kawumpuli atandise mu bantu. N'ateeka obubaane ku kyoterezo, n'asabira abantu ekisonyiwo, nga w'ayimiridde yeetooloddwa abakyali abalamu n'abafudde. Kawumpuli n'akoma. Abo abaafa kawumpuli baali omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, ng'abo abaafiira mu keediimo ka Koora tobabaliddeemu. Kawumpuli bwe yakomezebwa, Arooni n'addayo eri Musa ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli bakuwe emiggo kkumi n'ebiri, gumu gumu okuva ku buli mukulu wa kika, owandiike erinnya lya buli mukulu wa kika ku muggo gwe. Era owandiike erinnya lya Arooni ku muggo gw'ab'Ekika kya Leevi, kubanga buli mukulu wa kika anaaba n'omuggo gumu. Onootwala emiggo egyo mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, n'ogiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, we nsisinkanira nammwe. Omuntu gwe nnaalonda, omuggo gwe gunaaloka, ndyoke mmalewo okwemulugunya kw'Abayisirayeli okujja gye ndi, nga babeemulugunyiza mmwe.” Musa n'ayogera n'Abayisirayeli. Abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, gumu gumu buli kika, emiggo gyonna kkumi n'ebiri. Omuggo gwa Arooni nagwo ne gubeera mu gyo. Musa n'ateeka emiggo egyo mu Weema, mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano. Ku lunaku olwaddako, Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'alaba ng'omuggo gwa Arooni ogw'ab'omu Kika kya Leevi, gulose ne guleeta omutunsi, ne gusansula, ne gubala ebibala ebyengevu. Musa n'aggyayo emiggo gyonna, n'agifulumya n'agitwalira Abayisirayeli bonna, ne bagikebera, buli omu n'atwala ogugwe. Mukama n'agamba Musa nti: “Zzaayo omuggo gwa Arooni mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, gukuumibwenga, gube akabonero akalabula abajeemu, nti bajja kufa, bwe batakomya kunneemulugunyiza.” Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. Abayisirayeli ne bagamba Musa nti: “Tuutuno, tufudde, tuzikiridde, ffenna tuweddewo. Oba nga buli asembera okumpi n'Eweema ya Mukama anaafa, olwo ffenna tetuggweewo?” Mukama n'agamba Arooni nti: “Ggwe ne batabani bo, n'ab'omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga ebinaabanga bisobye mu Kifo Ekitukuvu. Naye ebinaabanga bisobye mu bwakabona bwammwe, binaavunaanyizibwanga ggwe ne batabani bo mwekka. Onooleetanga baganda bo, ab'omu Kika kya Leevi, bakwegatteko, bakuyambenga ggwe ne batabani bo, nga muweereza mu Weema. Banaakolanga emirimu gy'obalagira, n'emirimu gyonna egy'omu Weema, naye tebakkirizibwa kusemberera bintu eby'omu Kifo Ekitukuvu, wadde alutaari, sikulwa nga bo nammwe mufa. Banaakoleranga wamu naawe, ne balabiriranga Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu, nga bakola emirimu gyamu gyonna. Naye atali Muleevi, takkirizibwa kubasembereranga. Mmwe muba mulabiriranga Ekifo Ekitukuvu ne alutaari, nnemenga kuddamu kusunguwalira Bayisirayeli. Era Nze kennyini, nze neerobozezza baganda bammwe Abaleevi mu Bayisirayeli, ne baba ekirabo kye mpadde mmwe. Naye Ggwe ne batabani bo, munaakolanga omulimu gwammwe ogw'obwakabona ogukwatagana ne alutaari, era n'ebyo ebiri mu Kifo Ekitukuvu. Okuweereza mu bwakabona, nkibawa mmwe ng'ekirabo. Atali Muleevi anaasembereranga ebintu ebitukuvu, anattibwanga.” Mukama n'agamba Arooni nti: “Laba, ggwe nkuwadde ebisigalawo nga tebyokeddwa, ku ebyo Abayisirayeli bye bantonera. Mbikuwadde ggwe, ne batabani bo, bibenga omugabo gwe munaafunanga ennaku zonna. Ku bintu byonna ebitukuvu ennyo ebintonerwa ne bisigalawo nga si bya kwokebwa, bino bye binaabanga ebyammwe: buli ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, buli ekiweebwayo olw'ebibi, na buli ekiweebwayo olw'okweggyako omusango. Byonna ebitukuvu ennyo ebintonerwa, binaabanga bibyo, ne batabani bo. Munaabiryanga mu ngeri egwanira okulya ebitukuvu ennyo. Buli musajja akkirizibwa okubiryangako. Mutegeerenga nga bitukuvu. “Ne byonna ebimpongerwa Abayisirayeli, ne biba byange mu ngeri ey'enjawulo, nabyo bibyo. Mbikuwadde ggwe, ne batabani bo, ne bawala bo, mubifunenga ennaku zonna. Buli mulongoofu ali mu maka go, akkirizibwa okubiryangako. “Byonna ebisinga obulungi, ebisooka okukungulwa, ku muzigo ogw'emizayiti, ku mwenge ogw'emizabbibu, ne ku ŋŋaano, bye bantonera Nze Mukama, mbikuwadde. Ebibala byonna ebisooka okwengera mu nsi yaabwe, bye banandeeteranga Nze Mukama, binaabanga bibyo. Buli mulongoofu ali mu maka go, akkirizibwa okubiryako. Buli kintu ekinampongerwanga mu Yisirayeli, kinaabanga kikyo. “Buli ekiggulanda, k'abe muntu oba k'ebe nsolo, ekintonerwa Nze Mukama, kinaabanga kikyo. Naye omwana omuggulanda, onokkirizanga ensimbi ze bamununuza. Era n'ensolo eteri nnongoofu, onokkirizanga ensimbi ze baginunuza. Abaana banaanunulibwanga nga ba mwezi gumu, ku muwendo omugereke ogwa sekeli ttaano eza ffeeza, ez'ekipimo ekitongole eky'omu Kifo Ekitukuvu, ze ggeera amakumi abiri buli sekeli. Naye ente, n'endiga, n'embuzi, ezisooka okuzaalibwa, teziinunulwenga. Ezo zange. Zinattibwanga, omusaayi gwazo n'ogumansira ku alutaari, amasavu gaazo n'ogookya, ne gaba ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa, Nze Mukama. Ennyama yaazo, eneebanga yiyo, ng'ekifuba ekimpongerwa ne kiba kyange mu ngeri ey'enjawulo, n'ekisambi ekya ddyo, bwe biri ebibyo. “Ebitone byonna eby'enjawulo Abayisirayeli bye bantonera, mbikuwadde ggwe, ne batabani bo, ne bawala bo, mubifunenga ennaku zonna. Eno ye ndagaano ey'olubeerera gye nkoze naawe era n'ezzadde lyo, eterimenyebwa.” Mukama n'agamba Arooni nti: “Tolifuna ttaka lya nsikirano, wadde okuweebwa omugabo mu nsi y'Abayisirayeli. Ku byange kw'onoogabananga, era kw'onoofunanga ebikubeezaawo mu Bayisirayeli.” Mukama era n'agamba nti: “Abaleevi mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi, Abayisirayeli bye bantonera, bibenga byabwe eby'ensikirano era ebibayimirizaawo. Eyo ye mpeera gye banaaweebwanga, olw'obuweereza bwabwe mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu. N'okuva kati, Abayisirayeli abatali Baleevi, tebagezanga okusemberera Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, balemenga okwonoona ne battibwa. Naye Abaleevi, be banaakolanga omulimu ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, era be banaavunaanyizibwanga ebyayo ebinaabanga bisobye. Lino lye tteeka ery'olubeerera, erinaakolanga ne ku bazzukulu bammwe, nti Abaleevi tebaabenga na ttaka lya nsikirano, kubanga ebitundu eby'ekkumi Abayisirayeli bye bantonera Nze Mukama, nga bye biweebwayo ebyenjawulo, bye mpadde Abaleevi okuba ebyabwe, kyenvudde mbagamba bo nti tebaabenga na ttaka lya nsikirano mu Bayisirayeli.” Mukama n'agamba Musa, ayogere n'Abaleevi, abagambe nti: “Bwe munaggyanga ku Bayisirayeli ebitundu eby'ekkumi Mukama by'abawadde mmwe okuba ebyammwe, munaatoolangako ekitundu ekimu eky'ekkumi ku byo, ne kiba ekiweebwayo ekyenjawulo, kye muwaayo eri Mukama. Era ekiweebwayo ekyo ekyenjawulo kye muwaayo, kinaababalirwanga ng'omulimi ky'awaayo, eky'emmere ey'empeke, gy'aggye mu gguuliro, n'eky'omwenge ogw'emizabbibu, gw'aggye mu ssogolero, bwe kimubalirwa. Bwe mutyo nammwe munaggyanga ku bitundu byonna eby'ekkumi, Abayisirayeli bye babawa mmwe, ne muwaayo eri Mukama, ekiweebwayo ekyenjawulo. Ekiweebwayo ekyo ekyenjawulo kye muwaayo eri Mukama, munaakiwanga Arooni kabona. Ebirabo byonna bye mufuna, ebisinga obulungi ku byo, kwe munaatoolanga ekirabo ekyenjawulo kye mutonera Mukama, era munaakiwangayo nga kijjuvu. Kale bwe munaawangayo ku byo ekitundu ekisinga obulungi, ebirala munaabisigazanga, ng'omulimi bw'asigaza by'aggya mu gguuliro ne mu ssogolero, ng'amaze okuwaayo ekitone kye. Era bye musigazizza, mmwe n'ab'omu maka gammwe, munaabiriiranga wonna we mwagala, kubanga ebyo ye mpeera gye mufuna olw'obuweereza bwe mukola mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu. Temuubenga na musango okubirya, kasita munaamalanga okuwa Mukama ebisinga obulungi ku byo. Naye mwekuumenga obutavumaganyanga bitone Abayisirayeli bye bawaayo, nga mubaako bye mulya nga temunnawaayo eri Mukama ekitundu ekyo ekisinga obulungi. Bwe munaabiryangako nga temumaze kukiwaayo, temulirema kuttibwa.” Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Kino kye kiragiro ekiri mu tteeka, Nze Mukama lye nteekawo. Ŋŋamba bwe nti: Gamba Abayisirayeli bakuleetere ente eya lukunyu eteriiko kamogo, era eteteekebwangako kikoligo. Mugiwe Eleyazaari kabona, agitwale ebweru w'olusiisira, bagitte ng'alaba. Awo Eleyazaari kabona annyike olugalo lwe mu musaayi gwayo, agumansire emirundi musanvu okwolekera obwenyi bw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu Nze Mukama. Ente eyo yonna, okutwaliramu eddiba, n'ennyama, n'omusaayi, n'ebyenda byayo, eyokebwe, nga Eleyazaari kabona, alaba. Kabona oyo akwate omuti omwerezi, n'akati aka yisopu, n'ekiwuzi ky'olugoye olumyufu, abisuule mu muliro, ente eyo mw'eyokerwa. Olwo Eleyazaari ayoze engoye ze, anaabe omubiri, alyoke ayingire mu lusiisira, wabula asigale nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'omuntu ayokezza ente eyo, ayoze engoye ze, anaabe omubiri, wabula naye asigale nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Omuntu omulongoofu ayoole evvu ly'ente eyo, alitereke ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, gye liba likuumirwa. Evvu eryo linaakozesebwanga ekibiina ky'Abayisirayeli, okutegeka amazzi agakozesebwa mu mukolo ogw'okwetukuza, ogukolebwa okuggyawo ebibi. Omuntu ayodde evvu ly'ente eyo, ayoze engoye ze, wabula abe atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Etteeka lino linaabanga lya lubeerera ku Bayisirayeli ne ku bagwira ababeera mu bo. “Buli anaakoonanga ku mulambo gw'omuntu, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu. Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, anaanaabanga amazzi ag'okwetukuza, n'alyoka aba omulongoofu. Kyokka ku lunaku olwo olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu bw'ateetukuzenga, anaasigalanga nga si mulongoofu. Buli akoona ku mulambo gw'omuntu n'ateetukuza, avumaganya Eweema ya Mukama, era anaaboolebwanga mu Bayisirayeli. Anaasigalanga nga si mulongoofu, kubanga tamansiddwako mazzi ag'okwetukuza. “Omuntu bw'afiira mu weema, lino lye tteeka: buli ayingira mu weema eyo, na buli aba asangiddwamu, aba atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. Buli kintu mu weema eyo ekyasaamiridde, ekitabikiddwako kisaanikira, tekiba kirongoofu. Era ebweru, buli akoona ku gwe basse obussi, oba ku afudde yekka, oba akoona ku ggumba ly'omufu, oba ku malaalo, taba mulongoofu okumala ennaku musanvu. “Olw'okuggyawo obutali bulongoofu, banaatoolanga ku vvu ery'ekitone ky'ente eya lukunyu ekyayokebwa olw'okutukuza, ne baliteeka mu kibya, ne baliyiwamu amazzi agaggyiddwa mu mugga ogukulukuta. Omuntu omulongoofu anaakwatanga akati aka yisopu, n'akannyika mu mazzi ago, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byamu byonna, ne ku bantu abaagirimu, ne ku oyo eyakoona ku ggumba oba ku gwe basse obussi oba ku afudde yekka oba ku malaalo. Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, omuntu omulongoofu anaamansiranga ku atali mulongoofu. Ku lunaku olw'omusanvu, anaamutukuzanga. Olwo omuntu oyo atannaba mulongoofu, anaayozanga engoye ze, n'anaaba, n'aba omulongoofu akawungeezi. “Omuntu atali mulongoofu bw'ateetukuza, asigala nga si mulongoofu, kubanga amazzi ag'okwetukuza gaba tegamumansiddwako. Era olw'obutaba mulongoofu, avumaganya Weema ya Mukama, era anaaboolebwanga n'ava mu kibiina ky'abantu ba Katonda. Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna. Omuntu amansira amazzi agakozesebwa okutukuza, naye anaayozanga engoye ze. N'oyo anaakoonanga ku mazzi agakozesebwa okutukuza, taabenga mulongoofu okutuuka akawungeezi. Buli kintu atali mulongoofu ky'anaakoonangako, kinaafuukanga ekitali kirongoofu, ne buli anaakikoonangako, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.” Mu mwezi ogusooka, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kituuka mu Ddungu ly'e Ziini, ne kisiisira e Kadesi. Miriyamu n'afiira eyo, era n'aziikibwa eyo. Ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi, abantu ne bakuŋŋaanira ku Musa ne Arooni nga beemulugunya. Ne bayombesa Musa nga bagamba nti: “Singa twafa baganda baffe lwe baafiira mu maaso ga Mukama! Lwaki mwaleeta ekibiina kya Mukama mu ddungu lino? Mwagala tufiire muno, n'amagana gaffe? Era lwaki mwatuggya e Misiri, ne mutuleeta mu kifo kino ekibi, omutali ŋŋaano, omutali mitiini, omutali mizabbibu, omutali makomamawanga, era omutali wadde amazzi ag'okunywa?” Musa ne Arooni ne bava mu maaso g'ekibiina, ne bagenda ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira. Mukama n'agamba Musa nti: “Kwata omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Arooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Obaggyire amazzi mu lwazi, bw'otyo onywese ekibiina ky'abantu n'amagana gaabwe.” Musa n'aggya omuggo ku Ssanduuko ey'Endagaano, nga Mukama bwe yamulagira. Musa ne Arooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi. Musa n'agamba abantu nti: “Bajeemu mmwe, muwulirize! Tuyinza okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” Musa n'agalula omuggo n'agukubisa olwazi emirundi ebiri, amazzi mangi ne gawamatukamu. Abantu bonna ne banywa era n'amagana gaabwe. Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Nga bwe mutanneesize, ne mutampeesa kitiibwa mu maaso g'Abayisirayeli, temuliyingiza kibiina ky'abantu bano mu nsi bo gye mbawa.” Ago ge mazzi g'e Meriba, Abayisirayeli gye baawakanyiza Mukama n'abalaga bw'ali omutuukirivu. Awo Musa ng'ali e Kadesi, n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumutegeeza nti baganda be Abayisirayeli bagamba nti: “Omanyi bulungi ebizibu byonna ebyatutuukako. Bajjajjaffe baagenda e Misiri, ne tubeera mu Misiri okumala emyaka mingi. Abamisiri ne batubonyaabonya ffe ne bajjajjaffe. Twakaabirira Mukama atuyambe, n'awulira okukaaba kwaffe, n'atuma omubaka n'atuggya e Misiri. Kaakano tuutuno tuli Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n'ensi yo. Tukwegayiridde, tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kulinnyako mu nnimiro n'emu, wadde ey'emizabbibu, era tetujja kunywa ku mazzi ag'omu nzizi zammwe. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, awatali kuwunjawunjako ku ddyo oba ku kkono, okutuusa lwe tulimala okuyita mu nsi yo.” Naye Abeedomu ne bamuddamu nti: “Tojja kuyita mu nsi yaffe. Bw'onoogezaako okuyitamu, tujja kukwata ebyokulwanyisa tukulwanyise.” Abayisirayeli ne bagamba nti: “Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, era ffe n'amagana gaffe, buli lwe tunaanywa ku mazzi gammwe, tujja kugasasulira. Tusaba kimu kyokka: mutukkirize tuyitemu buyisi.” Abeedomu ne bagamba nti: “Temujja kuyitamu.” Ne basindika eggye eddene n'ebyokulwanyisa eby'amaanyi okulumba Abayisirayeli. Bwe batyo Abeedomu ne bagaana Abayisirayeli okuyita mu nsi yaabwe. Abayisirayeli ne bakyuka ne bakwata ekkubo eddala. Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva e Kadesi, ne kitambula, ne kituuka ku Lusozi Hoori, ku nsalo ne Edomu. Nga bali eyo, Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Arooni ajja kufa yeegatte ku bajjajjaabe. Tajja kuyingira mu nsi gye mpa Abayisirayeli, kubanga mmwe mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag'e Meriba. Twala Arooni ne Eleyazaari mutabani we, oyambuke nabo ku Lusozi Hoori. Arooni omwambulemu ebyambalo bye eby'obwakabona, obyambaze Eleyazaari mutabani we. Arooni ajja kufiira eyo, yeegatte ku bajjajjaabe.” Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. Ne bambuka ku Lusozi Hoori, ng'ekibiina kyonna kiraba. Musa n'ayambulamu Arooni ebyambalo eby'obwakabona, n'abyambaza Eleyazaari mutabani wa Arooni. Arooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Olwo Musa ne Eleyazaari ne baserengeta ne bava ku lusozi. Awo ekibiina ky'Abayisirayeli bwe kyamanya nga Arooni afudde, ne kimukungubagira okumala ennaku amakumi asatu. Araadi, Kabaka Omukanaani, eyabeeranga mu kitundu kya Kanaani eky'ebukiikaddyo, bwe yawulira ng'Abayisirayeli bajja, nga bakutte ekkubo ly'e Atariimu, n'agenda okubalwanyisa, n'awamba abamu ku bo. Abayisirayeli ne beeyama obweyamo eri Mukama ne bagamba nti: “Bw'onooweerayo ddala abantu bano mu mikono gyaffe, tujja kuzikiririza ddala ebibuga byabwe.” Mukama n'akkiriza Abayisirayeli kye baasaba, n'abawa okuwangula Abakanaani, ne babazikiririza ddala, bo n'ebibuga byabwe. Ekifo ne kituumibwa erinnya Horuma. Abayisirayeli ne bava ku Lusozi Hoori, ne batambula, nga bakutte ekkubo eridda ku Nnyanja Emmyufu, basobole okwetooloola ensi ya Edomu. Abantu ne beetamwa olw'olugendo, ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa nti: “Lwaki mwatuggya e Misiri? Mwatuleeta tufiire mu ddungu? Tewali mmere, tewali mazzi. N'okwetamwa twetamiddwa ekyokulya kino ekitalina bwe kiri.” Awo Mukama n'asindika emisota egy'obusagwa, era bangi ku Bayisirayeli ne bafa. Abantu ne bajja eri Musa, ne bagamba nti: “Twakola kibi bwe twayogera obubi ku Katonda ne ku ggwe. Weegayirire Mukama atuggyeko emisota.” Musa n'asabira abantu. Mukama n'agamba Musa nti: “Kola omusota ogufaanana egyo egy'obusagwa, oguwanike ku mulongooti. Buli anaaba alumiddwa omusota, bw'anaatunula ku ogwo, anaawona.” Musa n'aweesa omusota ogw'ekikomo, n'aguwanika ku mulongooti. Awo buli eyabanga alumiddwa omusota, bwe yatunuuliranga omusota ogwo ogw'ekikomo, ng'awona. Abayisirayeli ne batambula, ne basiisira mu Obooti. Bwe baava mu Obooti, ne basiisira mu Yiye-Abariimu, mu ddungu eryolekera Mowaabu, ku ludda olw'ebuvanjuba. Bwe baava eyo, ne batambula ne basiisira mu Kiwonvu ky'e Zeredi. Bwe baava eyo, ne batambula ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni, oguli mu ddungu erituuka ne mu nsi y'Abaamori. Omugga Arunoni gwe gwawula ensi y'Abamowaabu ku y'Abaamori. Mu Kitabo ky'Entalo za Mukama kyebava bagamba nti: “Waaheebu mu Suufa n'ebiwonvu bya Arunoni, okukkirira mu biwonvu, okutuuka ku Kibuga Ari, okuliraana ensalo ne Mowaabu.” Bwe baava eyo ne batambula, ne batuuka ku Beeri. Olwo lwe luzzi Mukama lwe yagamba Musa nti: “Kuŋŋaanya abantu, Ŋŋenda kubawa amazzi.” Abayisirayeli ne bayimba oluyimba luno nti: “Muluyimbire! Ggwe oluzzi, sumulula ensulo zo. Oluzzi olwasimwa abakulu, abakungu b'abantu, nga balagirwa omufuzi. Baalusimisanga miti gye bakwata: gye miggo.” Ne bava mu ddungu, ne bagenda e Mataana. Bwe baava e Mataana, ne bagenda e Nahaliyeeli. Bwe baava e Nahaliyeeli ne batuuka e Bamooti. Bwe baava e Bamooti, ne batuuka mu kiwonvu ekiri mu nsi y'Abamowaabu, ku ntikko y'Olusozi Pisuga, okulengererwa eddungu. Abayisirayeli ne batuma ababaka eri Sihoni, Kabaka w'Abaamori, okumugamba nti: “Tukwegayiridde, tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kuwunjawunjako mu nnimiro n'emu, wadde ey'emizabbibu. Tetujja na kunywa mazzi ga mu nzizi zammwe. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, okutuusa lwe tulimala okuyita mu nsi yo.” Kyokka Sihoni n'atakkiriza Bayisirayeli kuyita mu nsi ye. N'akuŋŋaanya abantu be bonna, n'agenda e Yahazi mu ddungu, n'alwanyisa Abayisirayeli. Abayisirayeli ne battira abantu be mu lutalo, ne beefuga ensi ye, okuva ku Mugga Arunoni okutuuka ku Mugga Yabboki, kwe kugamba okutuuka ku Bammoni, kubanga ensalo y'Abammoni yali ekuumibwa na maanyi. Abayisirayeli ne bawamba ebibuga by'Abaamori byonna, omuli ne Hesubooni, n'obubuga bwonna obwali bukyetoolodde, ne babibeeramu. Hesubooni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sihoni kabaka w'Abaamori, eyali amaze okulwanyisa kabaka wa Mowaabu mu kusooka, n'amuwangula, n'awamba ensi ye yonna, okutuukira ddala ku Mugga Arunoni. Abayimbi kyebaava bayimba nti: “Mujje mu Hesubooni ekibuga kya Sihoni, mukizimbe buggya kinywezebwe. Omuliro gwava mu Hesubooni, ennimi zaagwo mu kibuga kya Sihoni, ne gwokya Ari, ekibuga kya Mowaabu, ne guzikiriza ebifo ebigulumivu ebya Arunoni. Nga zibasanze Abamowaabu! Muzikiridde mmwe abasinza lubaale Kemosi! Alese batabani bammwe bafuuke ababungeese, ne bawala bammwe bawambibwe Sihoni, Kabaka w'Abaamori. Naye ffe tubasaanyizzaawo okuva ku Hesubooni, okutuuka e Diboni. Tubazikirizza n'okutuuka e Noofa, ekituuka ku Medeba.” Bwe batyo Abayisirayeli ne bafuukira ddala batuuze mu nsi y'Abaamori. Musa n'atuma abantu okuketta Ekibuga Yazeri. Abayisirayeli ne bakiwamba, awamu n'obubuga obwali bukyetoolodde, ne bagobamu Abaamori abaalimu. Abayisirayeli ne bakyuka, ne bakwata ekkubo ly'e Basani. Ogi, Kabaka w'e Basani, n'abalumba n'abantu be bonna okubalwanyisiza mu Edereyi. Mukama n'agamba Musa nti: “Tomutya, kubanga mmuwaddeyo mu mikono gyo, ye n'abantu be bonna, era n'ensi ye. Onoomukolako kye wakola ku Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni.” Awo Abayisirayeli ne batta Ogi ne batabani be, n'abantu be bonna, obutalekaawo n'omu, ne beefunira ensi ye. Abayisirayeli ne batambula, ne basiisira mu nsenyi z'e Mowaabu, emitala wa Yorudaani okwolekera Yeriko. Awo Balaki mutabani wa Zippori n'alaba byonna Abayisirayeli bye baakola ku Baamori. Abamowaabu ne batya nnyo ne batekemuka, kubanga Abayisirayeli baali bangi nnyo. Abamowaabu ne bagamba abakulembeze ba Midiyaani nti: “Kaakano ogubinja guno gujja kulya gusaanyeewo byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'erya n'esaanyaawo omuddo ogw'omu ttale.” Awo Balaki mutabani wa Zippori, era eyali kabaka wa Mowaabu mu kiseera ekyo, n'atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Beyori ow'e Petori, ekiri okumpi n'Omugga Ewufuraate, mu nsi y'Abammoni, okumugamba nti: “Abantu b'eggwanga eddamba bavudde e Misiri, babuutikidde ensi, era bali wano okuliraana nange. Kale kaakano, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano, kubanga bansinga amaanyi. Olwo mpozzi tunaasobola okubawangula, ne mbagoba mu nsi eno, kubanga mmanyi nga ggwe, omuntu gw'osabira omukisa, agufuna, era nga buli gw'okolimira, akolimirwa.” Awo abakulembeze ba Mowaabu n'aba Midiyaani ne bagenda eri Balamu, nga batutte kye banaamusasula olw'okukolima. Bwe baatuuka gy'ali, ne bamutegeeza ebyo Balaki bye yabatuma. Balamu n'abagamba nti: “Musule wano ekiro kino. Enkya nja kubaddiza obubaka, okusinziira ku ekyo Mukama ky'anaaba aŋŋambye.” Abakulembeze ba Mowaabu ne basula ewa Balamu. Katonda n'ajja eri Balamu n'amubuuza nti: “Bantu ba ngeri ki bano abali naawe?” Balamu n'agamba Katonda nti: “Kabaka wa Mowaabu, Balaki mutabani wa Zippori, antumidde ng'agamba nti: ‘Waliwo abantu abavudde e Misiri, ababuutikidde ensi. Nkwegayiridde, jjangu obankolimirire, mpozzi nnaasobola okubalwanyisa, ne mbagoba mu nsi eno.’ ” Naye Katonda n'agamba Balamu nti: “Togenda nabo, era togeza n'okolimira abantu bali, kubanga baaweebwa omukisa.” Enkeera, Balamu n'agamba ababaka ba Balaki nti: “Muddeeyo mu nsi yammwe. Mukama agaanye okunzikiriza okugenda nammwe.” Awo abakulembeze ba Mowaabu ne basituka ne baddayo eri Balaki, ne bamugamba nti: “Balamu agaanye okujja naffe.” Balaki n'ayongera okutuma abakulembeze abalala abasinga abo obungi, era n'okuba abeekitiibwa. Ne bagenda eri Balamu, ne bamugamba nti: “Balaki mutabani wa Zippori agamba nti: ‘Nkwegayiridde, waleme kubaawo kikuziyiza kujja gye ndi, kubanga nja kukukuza obeere waakitiibwa nnyo, era buli ky'onoŋŋamba, nja kukikola. Kale jjangu, nkwegayiridde, onkolimirire abantu bano.’ ” Balamu n'addamu abaweereza ba Balaki nti: “Balaki ne bwe yandimpadde olubiri lwe nga lujjudde ebyobugagga ebingi, siyinza kuva ku ekyo Mukama Katonda wange ky'alagidde. Siyinza kukikendeezaako wadde okukyongerako. Kale nno mbeegayiridde, nammwe musule wano ekiro kino, mmale okumanya Mukama ky'anaayongera okuntegeeza.” Ekiro ekyo Katonda n'ajja eri Balamu, n'amugamba nti: “Abantu abo oba nga bazze kukuyita, situka ogende nabo. Wabula ojja kukola ekyo kyokka kye nkulagira.” Enkeera Balamu bwe yazuukuka, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'agenda n'abakulembeze ba Mowaabu. Katonda n'asunguwala, kubanga Balamu yagenda. Awo Balamu bwe yali nga yeebagadde endogoyi ye, nga n'abaweereza be babiri bali naye, Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ng'akutte ekitala ekisowoddwa, n'eva mu kkubo, n'edda mu ttale. Balamu n'agikuba okugizza mu kkubo. Malayika wa Mukama n'alyoka ayimirira ekkubo we lifundira, nga liyita wakati w'ennimiro z'emizabbibu, ng'ebbali n'ebbali eriyo ekisenge. Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku kisenge, n'enyigirizaako ekigere kya Balamu. Balamu n'addamu okugikuba. Malayika wa Mukama ne yeeyongerayo mu maaso, n'ayimirira mu kifo eky'akanyigo, awatali bwekyusizo ku ddyo wadde ku kkono. Endogoyi bwe yalaba Malayika wa Mukama, n'ebwama ku ttaka, nga Balamu agiri ku mugongo. Balamu n'asunguwala nnyo, n'agikuba n'omuggo gwe. Mukama n'asobozesa endogoyi okwogera, n'egamba Balamu nti: “Nkukoze ki, ggwe okunkuba emirundi gino gyonsatule?” Balamu n'agiddamu nti: “Kubanga onnyoomye. Singa mbadde n'ekitala, n'andikusse.” Endogoyi n'egamba Balamu nti: “Si nze ndogoyi yo gye weebagalako okuva ddi na ddi n'okutuusa kati? Nali nkuyisizzaako bwe ntyo?” Balamu n'addamu nti: “Nedda.” Mukama n'azibula amaaso ga Balamu, Balamu n'alaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo ng'agaludde ekitala ekisowoddwa. Balamu n'akutama, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise. Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti: “Okubidde ki endogoyi yo emirundi egyo gyonsatule? Nzuuno nzize okukuziyiza, kubanga olugendo lwo sirusemba. Endogoyi yo bw'endabye, n'ekyuka okunneewala emirundi egyo gyonsatule. Singa tekyuse kunneewala, nandibadde nkusse ggwe, yo ne ngireka.” Balamu n'agamba Malayika wa Mukama nti: “Nnyonoonye. Mbadde simanyi ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale, kaakano, oba nga olugendo lwange terukusanyusa, ka nzireyo eka.” Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti: “Genda n'abantu abo, naye ekyo kyokka kye nnaakutegeeza, ky'onookola.” Awo Balamu n'agenda n'abakungu ba Balaki. Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'agenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu, ekiri ku lubalama lw'Omugga Arunoni, awasemberayo ddala ku nsalo. Balaki n'agamba Balamu nti: “Lwaki tewajja bwe nakutumira abantu okukuyita ku mulundi ogwasooka? Walowooza nti siyinza kukukuza n'oba waakitiibwa?” Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzuuno kaakano nzize gy'oli. Naye olowooza nnina obuyinza okubaako kye njogera ekyange ku bwange? Ekyo kyokka Katonda ky'anandagira okwogera, kye nja okwogera.” Awo Balamu n'agenda ne Balaki, ne batuuka mu Kibuga Huzooti. Balaki n'atambira ente n'endiga, n'aweerezaako Balamu n'abakungu abaali naye. Awo enkeera, Balaki n'atwala Balamu, n'ayambuka naye ku bifo ebigulumivu ebya Baali. Balamu n'asinziira eyo, okulengera ekitundu ku kibinja ky'Abayisirayeli. Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzimbira wano alutaari musanvu, era ondeetere wano ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu.” Balaki n'akola nga Balamu bwe yamugamba. Balaki ne Balamu ne batambira ente ennume emu, n'endiga ennume emu ku buli alutaari. Balamu n'alyoka agamba Balaki nti: “Yimirira okumpi n'ekiweebwayo kyo ekyokebwa, nze ŋŋende ndabe oba nga Mukama anajja okunsisinkana. Era buli ky'anandaga, nnaakikutegeeza.” N'ayambuka yekka ku ntikko y'akasozi, awataali bimera. Katonda n'amusisinkana. Balamu n'agamba Katonda nti: “Ntegese alutaari musanvu, era ku buli emu, ne ntambirirako ente ennume emu n'endiga ennume emu.” Mukama n'amanyisa Balamu by'anaayogera. N'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era oyogere bw'otyo.” Bw'atyo Balamu n'addayo, n'asanga Balaki ng'ayimiridde okumpi n'ekitambiro ky'awaddeyo ekyokebwa, ng'ali wamu n'abakungu ba Mowaabu bonna. Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Balaki Kabaka wa Mowaabu, yanzigya mu Aramu, mu nsozi z'ebuvanjuba, n'aŋŋamba nti: ‘Jjangu onkolimirire aba Yakobo, jjangu ovumirire Abayisirayeli.’ Nnaakolimira ntya oyo, Katonda gw'atakolimidde? Nnaavumirira ntya oyo, Katonda gw'atavumiridde? Mbalabira we ndi ku ntikko z'enjazi, Mbalengerera ku lusozi. Abantu abo lye ggwanga eribeera lyokka, eriteebalira mu mawanga. “Abazzukulu ba Yakobo, bangi nnyo ng'enfuufu. Ayinza okubabala ye ani? Nga kizibu n'okubalako wadde ekyokuna ekimu eky'Abayisirayeli abo! Singa nnyini obulamu bwange buggwaako nga ndi muntu wa Ddunda! Singa n'enkomerero yange eba ng'ey'omutuukirivu!” Balaki n'agamba Balamu nti: “Biki bino by'onkoledde? Nakuleese okolimire abalabe bange, naye ate ggwe ky'okoze, obasabidde mukisa?” Ye n'addamu nti: “Nandiremye okwogera ekyo kyokka Mukama ky'ampadde okwogera?” Awo Balaki n'agamba Balamu nti: “Nkwegayiridde jjangu tugende ffembi mu kifo ekirala, w'onooyinza okubalengerera. Onoolabako bamu, sso si bonna, osinziire eyo okubankolimirira.” N'amutwala mu ttale ly'e Zofiimu, ku ntikko y'Olusozi Pisuga. N'azimbayo alutaari musanvu, n'atambirira ku buli alutaari ente ennume emu, n'endiga ennume emu. Balamu n'agamba Balaki nti: “Sigala wano okumpi n'ekiweebwayo kyo ekyokebwa, nze ŋŋende eri nsisinkane Mukama.” Mukama n'amanyisa Balamu by'anaayogera. N'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era oyogere bw'otyo.” N'addayo, n'asanga Balaki ng'akyayimiridde okumpi n'ekiweebwayo kye ekyokebwa, nga n'abakungu ba Mowaabu bali wamu naye. Balaki n'abuuza Balamu nti: “Mukama agambye ki?” Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Balaki, jjangu owulire, Ntegera okutu ggwe mutabani wa Zippori. “Katonda talimba, naye abantu balimba. Katonda takyuka, naye abantu bakyuka. Ye ky'asuubiza akikola, ky'ayogera akituukiriza. “Katonda andagidde okuwa omukisa. N'olwekyo Katonda bw'awa omukisa, siyinza kugujjulula. Talabye kibi ku ba Yakobo, wadde ekikyamu ku Bayisirayeli. Mukama Katonda waabwe ali nabo. Baatula bw'ali Kabaka waabwe. Ng'embogo bwe yeesiga amayembe gaayo, nabo bwe beesiga Katonda abaggye e Misiri. Tekisoboka okuloga aba Yakobo, wadde okulagula eby'okukola akabi ku Bayisirayeli. Banaayogerwangako nti: ‘Katonda ng'abakoledde!’ Yisirayeli lye ggwanga eritaamuuka ng'empologoma enkazi, oba ensajja etebwama kukkalira, okutuusa lw'etuga ky'eyigga, n'enywa omusaayi gw'ekyo ekittiddwa.” Awo Balaki n'agamba Balamu nti: “Nga bw'ogaanye okubakolimira, era lema nno n'okubawa omukisa.” Naye Balamu n'addamu Balaki nti: “Saakugambye nti nteekwa okukola byonna Mukama by'anaagamba?” Balaki n'agamba Balamu nti: “Kale jjangu nkwegayiridde, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Mukama anaasiima osinziire eyo okubankolimirira.” Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku Lusozi Pewori, awalengererwa eddungu. Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzimbira wano alutaari musanvu, era ondeetere wano ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu.” Balaki n'akola nga Balamu bwe yagamba, n'atambira ku buli alutaari ente ennume emu, n'endiga ennume emu. Balamu bwe yamanya nga Mukama ayagala okuwa Abayisirayeli omukisa, n'atagenda kumala kwebuuza nga bwe yakola mu kusooka, wabula n'ayolekeza amaaso ge eri eddungu. Bwe yayimusa amaaso, n'alaba Abayisirayeli nga basiisidde ng'ebika byabwe bwe biddiriŋŋana. Mwoyo wa Mukama n'ajja ku ye. N'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Bino bye bigambo bya Balamu mutabani wa Beyori, era bye bigambo by'omusajja alaba obulungi. Bino bye bigambo by'oyo awulira Katonda by'agamba, eby'oyo eyeebaka, kyokka n'asigala ng'atunula, n'alaba ebimulagibwa Omuyinzawaabyonna. Eweema zammwe aba Yakobo, n'ensiisira zammwe Abayisirayeli, nga nnungi! Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu, ng'ennimiro ku lubalama lw'omugga; ng'emiti gy'omugavu, Mukama gye yasimba. Ziri ng'emiti emyerezi, egiri okumpi n'amazzi. Banaafunanga enkuba nnyingi, ne basiga ensigo zaabwe mu nnimiro efukirirwa obulungi. Kabaka waabwe anaasinganga Kabaka Agagi ekitiibwa, n'obwakabaka bwe bunaatenderezebwanga. Ng'embogo bwe yeesiga amayembe gaayo, nabo bwe beesiga Katonda abaggye mu Misiri. Balisaanyaawo amawanga g'abalabe baabwe, bamenyeemenye amagumba gaabwe, babafumise obusaale bwabwe. Abayisirayeli babwama ne beebaka ng'empologoma ey'amaanyi. Ani aguma okubazuukusa? Buli abasabira omukisa, naye aguweebwenga. Buli abakolimira, naye akolimirwenga.” Awo Balaki n'asunguwalira Balamu, ne yeecwacwana, n'agamba Balamu nti: “Nakuyita kukolimira balabe bange, ate ggwe kaakano obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. Kale kaakano ddayo ewammwe. Nali nsuubizza okukukuza obe waakitiibwa nnyo, naye Mukama akuziyizizza okukuzibwa.” Balamu n'agamba Balaki nti: “Ababaka be wantumira ssaabagamba nti: ‘Balaki ne bw'ampa olubiri lwe nga lujjudde ebyobugagga ebingi, siyinza kuva ku kigambo kya Mukama, ne nkola ekyange ku bwange, ka kibe kirungi oba ekibi,’ era nti ‘Nja kwogera ekyo kyokka Mukama ky'anaagamba?’ Kaakano nzirayo mu bantu bange, naye nga sinnagenda, jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola ku bantu bo mu biseera ebijja.” Awo Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Bino bye bigambo bya Balamu mutabani wa Beyori, era bye bigambo by'omusajja alaba obulungi. Bino bye bigambo by'oyo awulira Katonda by'agamba, amanya amagezi g'Atenkanika, era eby'oyo eyeebaka, kyokka n'asigala ng'atunula, n'alaba ebimulagibwa Omuyinzawaabyonna. “Bwe ntunula, mbalaba, naye si nga bwe bali kati. Mbatunuulira naye nga bandi wala. Kabaka ali ng'emmunyeenye alisibuka mu ba Yakobo bano Ye, ggwe muggo ogw'obwakabaka, ogulisibuka mu Bayisirayeli. Alikuba abakulembeze ba Mowaabu, alisaanyaawo aba Seeti bonna. “Aliwangula abalabe be mu Edomu, ne yeefuga ensi yaabwe Seyiri, nga yo Yisirayeli yeeyongera kuba ya maanyi. Oyo asibuka mu ba Yakobo alifuga, era alisaanyaawo abaliba basigaddewo mu kibuga.” Awo Balamu bwe yatunuulira Abamaleki, n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Ery'Abamaleki lye lyali ebbereberye mu mawanga, naye ku nkomerero, lya kuzikirira.” Bwe yatunuulira Abakeeni, n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Ekifo kye mubeeramu kigumu Kiri ng'ekisu ekyesiifu ekyawanikibwa eyo mu lwazi. “Naye Abakeeni mulizikirizibwa, Abassiriya bwe balibatwala nga muli basibe.” Balamu era n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti: “Zitusanze! Katonda bw'alikola ekyo, ani alisigalawo nga mulamu? Kale abalumbaganyi baliva e Kittimu mu mmeeri, ne bawangula Assiriya ne Eberi, naye nabo balizikirizibwa.” Awo Balamu n'asitula n'addayo ewaabwe, ne Balaki n'akwata amakubo ge. Abayisirayeli bwe baali e Sittimu, ne batandika okukola obwamalaaya n'abakazi Abamowaabu. Abakazi abo bwe baakolanga embaga nga batambirira balubaale baabwe, baayitanga Abayisirayeli. Abayisirayeli ne beetaba mu kulya, era ne bavuunamira balubaale abo, ne batabagana ne lubaale Baali ow'e Pewori. Mukama n'abasunguwalira. Mukama n'agamba Musa nti: “Twala abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli obattire mu maaso gange emisana ttuku, ndyoke ndekere awo okusunguwalira abantu.” Musa n'agamba abakungu b'Abayisirayeli nti: “Buli omu ku mmwe atte basajja be abaasinzizza Baali ow'e Pewori.” Mu kaseera ako, omu ku Bayisirayeli n'aleeta mu weema ye omukazi Omumidiyaani, nga Musa n'Abayisirayeli bonna balaba, bwe baali nga bakungubagira ku mulyango gw'Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, era muzzukulu wa Arooni kabona, bwe yalaba ekyo, n'asituka n'ava mu kibiina ky'abantu, n'akwata effumu, n'agoberera omusajja oyo Omuyisirayeli n'omukazi oyo, mu weema. N'abafumita effumu, ne libayitamu bombi. Olwo kawumpuli eyali azikiriza Abayisirayeli, n'akomezebwa, ng'amaze okutta abantu emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Mukama n'agamba Musa nti: “Olw'ekyo Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, era muzzukulu wa Arooni kabona, ky'akoze, ndekedde awo okusunguwalira Abayisirayeli. Yagaanye okubaako b'agumiikiriza mu bo, okusinza omulala yenna atali Nze, kyenvudde sibazikiriza mu busungu bwange. Kale, mugambe nti nkola naye endagaano ey'emirembe, era nti mmusiima, ye n'ezzadde lye eririmuddirira, babenga bakabona olubeerera, kubanga teyagumiikirizza banvuganya Nze Katonda we, bw'atyo n'afunira Abayisirayeli ekisonyiwo.” Omusajja Omuyisirayeli eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani yali Zimuri, mutabani wa Saalu, omukulu w'emu ku nnyumba ez'ab'Ekika kya Simyoni. Omukazi Omumidiyaani eyattibwa, yali Kozibi muwala wa Zuuri, eyali akulira abamu ku bakulu b'ennyumba mu Bamidiyaani. Mukama n'agamba Musa nti: “Lumba Abamidiyaani, obatte, kubanga balabe bammwe. Baabasalira enkwe, ne babasenderasendera e Pewori. Era balabe bammwe, olwa Kozibi muwala w'omufuzi Omumidiyaani. Kozibi oyo, mwannyinaabwe, ye yattibwa mu kiseera kya kawumpuli, olw'ebyo ebyagwawo e Pewori.” Awo kawumpuli bwe yaggwa, Mukama n'agamba Musa ne Eleyazaari, mutabani wa Arooni kabona, nti: “Mubale Abayisirayeli bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abayinza okugenda okutabaala. Mubabale nga mugoberera ennyumba za bajjajjaabwe.” Awo Musa ne Eleyazaari kabona, ne bategeeza abantu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yorudaani okwolekera Yeriko, ne babagamba nti: “Mubale abantu abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, nga Mukama bwe yalagira Musa.” Bano be Bayisirayeli abaava mu nsi y'e Misiri: Ekika kya Rewubeeni omwana omuggulanda wa Yisirayeli, kyalimu Amasiga: erya Hanoki n'erya Pallu, n'erya Hezirooni n'erya Karumi. Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Rewubeeni, era abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu. Ab'olulyo lwa Pallu baali Eliyaabu ne batabani be, Semweli, ne Datani, ne Abiraamu. Datani ne Abiraamu abo be baalondebwa ekibiina ky'abantu, ne bawakanya Musa ne Arooni, era be beetaba ne Koora lwe baawakanya Mukama. Ettaka lyayasama ne libamira wamu ne Koora, bwe kityo ekibinja ekyo ne kifa, omuliro lwe gwazikiriza abasajja ebikumi ebibiri mu ataano, ne bafuuka akabonero akalabula abalala. Naye batabani ba Koora tebaafa. Ekika kya Simyoni kyalimu Amasiga: erya Nemweli, n'erya Yamini, n'erya Yakini; erya Zera, n'erya Sawuuli. Ago ge Masiga g'Ab'Ekika kya Simyoni. Gaalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri. Ekika kya Gaadi kyalimu Amasiga: erya Zefoni, n'erya Haggi, n'erya Suni; erya Ozini, n'erya Eri; erya Aroodi, n'erya Areli. Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Gaadi, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu bitaano. Batabani ba Yuda, Eri ne Onani, baafiira mu nsi ye Kanaani. Ekika kya Yuda kyalimu Amasiga: erya Seela, n'erya Pereezi, n'erya Zera. Essiga lya Pereezi lyalimu ennyiriri: olwa Hezirooni, n'olwa Hamuli. Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Yuda, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu bitaano. Ekika kya Yissakaari kyalimu Amasiga: erya Toola, n'erya Puva; erya Yasuubu, n'erya Simurooni. Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Yissakaari, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya. Ekika kya Zebbulooni kyalimu Amasiga: erya Seredi, n'erya Eloni, n'erya Yaleeli. Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Zebbulooni, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo mukaaga mu bitaano. Yosefu yalina batabani be Manasse, ne Efurayimu. Mu Kika kya Manasse, Makiri mutabani wa Manasse oyo, ye kitaawe wa Gileyaadi, era gano ge Masiga g'abo abasibuka mu Gileyaadi: erya Yezeri, n'erya Heleki; erya Asiriyeeli n'erya Sekemu; erya Semida, n'erya Heferi. Zelofehaadi mutabani wa Heferi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala era amannya gaabwe ge gano: Maala ne Noowa, Hogula, Milika ne Tiruza. Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Manasse, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu. Ekika kya Efurayimu kyalimu Amasiga: erya Sutela, n'erya Bekeri, n'erya Tahani. Ab'omu lulyo lwa Erani basibuka mu Sutela, ye jjajjaabwe. Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Efurayimu, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo bonna basibuka mu Yosefu. Ekika kya Benyamiini kyalimu Amasiga: erya Bela, n'erya Asubeeli, n'erya Ahiraamu; erya Sefufaamu, n'erya Hufaamu. Ab'ennyiriri: olwa Arudi n'olwa Naamani basibuka mu Bela, ye jjajjaabwe. Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Benyamiini, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga. Ekika kya Daani kyalimu abasibuka mu Suhaamu, era abaabalibwa ku Basuhamu abo baali abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina. Ekika kya Aseri kyalimu Amasiga: erya Yimuna, n'erya Yisuvi, n'erya Beriya. Ab'olulyo olwa Heberi n'olwa Malukiyeeli basibuka mu Beriya, ye jjajjaabwe. Aseri yalina muwala we erinnya lye Seera. Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Aseri, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina. Ekika kya Nafutaali kyalimu Amasiga: erya Yahuzeeli, n'erya Guuni; erya Yezeri, n'erya Sillemu. Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Nafutaali, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina. Abasajja bonna Abayisirayeli abaabalibwa, baali emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu. Mukama n'agamba Musa nti: “Abo be baligabirwa ensi ebe obutaka bwabwe, okusinziira ku bungi bwabwe. Ekika ekirina abantu abangi, olikiwa ettaka ddene, n'ekika ekirina abantu abatono, olikiwa ettaka ttono. Buli kika kiriweebwa ettaka okuba obutaka bwakyo, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo abaabalibwa. Naye ettaka lirigabibwa nga likubirwa kalulu. Balirigabana nga bagoberera mannya ga bika bya bajjajjaabwe. Buli kika kiriweebwa ettaka lyakyo ery'ensikirano, nga likubirwa kalulu, era buli kika kirifuna ettaka, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo.” Bano be Baleevi abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe: abasibuka mu Gerusooni, n'abasibuka ku Kohati, era n'abasibuka mu Merari. Era mu Baleevi abo, mwe musibuka Abalibuni, Abaheburooni, Abamahuli, Abamuusi, n'Abakoora. Kohati ye kitaawe wa Amuraamu. Muka Amuraamu yali ayitibwa Yokebedi muwala wa Leevi. Yokebedi oyo baamuzaala bali Misiri. Yokebedi ye yazaalira Amuraamu abaana Arooni ne Musa, ne Miriyamu mwannyinaabwe. Arooni ye kitaawe wa Nadabu ne Abihu, ne Eleyazaari ne Yitamaari. Kyokka Nadabu ne Abihu baafa, bwe baawaayo eri Mukama omuliro Mukama gw'atabalagidde. Abasajja Abaleevi bonna abaabalibwa, okuva ku mwana ow'obulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu. Bo tebaabalibwa wamu n'Abayisirayeli bannaabwe, kubanga Abaleevi tebaaweebwa ttaka lya nsikirano nga Bayisirayeli balala. Abo be basajja Abayisirayeli abaabalibwa Musa ne Eleyazaari kabona, ku lubalama lw'Omugga Yorudaani, okwolekera Yeriko. Mu abo temwali n'omu ku bali abaabalibwa Musa ne Arooni kabona, lwe baabala Abayisirayeli mu Ddungu ly'e Sinaayi, kubanga Mukama yali agambye nti bonna baali ba kufiira mu ddungu. N'olwekyo, tewaali n'omu ku bo eyasigalawo, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Ne weesowolayo abawala abayitibwa Maala, ne Noowa, Hogula, ne Milika, ne Tiruza, bawala ba Zelofehaadi mutabani wa Heferi, Heferi mutabani wa Gileyaadi, Gileyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manasse, Manasse mutabani wa Yosefu. Ne bajja mu maaso ga Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze, n'ekibiina kyonna, ku mulyango gwa Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne bagamba nti: “Kitaffe yafiira mu ddungu nga tazadde baana ba bulenzi. Teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanya ne beetaba ne Koora okuwakanya Mukama, wabula ye yafa lwa kibi kye kirala. Kaakano erinnya lya kitaffe lisangulwe mu lulyo lw'asibukamu, olw'okuba nga teyazaala mwana wa bulenzi? Tusaba mutuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.” Musa n'ayanjula ensonga yaabwe eri Mukama. Mukama n'agamba Musa nti: “Bawala ba Zelofehaadi kye bagamba kituufu. Bawe obutaka obw'ensikirano mu baganda ba kitaabwe, basikire omugabo gwa kitaabwe. Era gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, muwala we anaasikiranga ebintu bye. Bw'anaabanga talina mwana wa buwala, munaawanga baganda be ebintu bye ne babisikira. Bw'anaabanga talina baganda be, kale ebintu bye munaabiwanga baganda ba kitaawe ne babisikira. Era bw'anaabanga talina na baganda ba kitaawe, olwo ebintu bye munaabiwanga oyo amulinako oluganda olusinga okuba olw'okumpi mu lulyo lwe, ne biba bibye. Lino linaabanga etteeka Abayisirayeli lye banaakuumanga, nga Nze Mukama bwe nkulagidde ggwe Musa.’ ” Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi luno Abiriimu, olengere ensi gye mpadde Abayisirayeli. Bw'onoomala okugirengera, ojja kufa, weegatte ku bajjajjaabo nga muganda wo Arooni bwe yafa n'abeegattako, kubanga mmwe mwembi mwajeemera ekiragiro kyange mu Ddungu ly'e Ziini. Ekibiina kyonna bwe kyanjeemera e Meriba ku mazzi, mwagaana okumpeesa ekitiibwa mu maaso gaabwe.” Ago ge mazzi g'e Meriba, e Kadesi mu Ddungu ly'e Ziini. Musa n'asaba Mukama nti: “Mukama, Katonda, ensibuko y'obulamu, nkusaba olonde omuntu, akulire abantu bano, abakulemberenga, era abakumeekumenga, abantu bo bano baleme kuba nga ndiga ezitalina musumba.” Mukama n'agamba Musa nti: “Twala Yoswa, mutabani wa Nuuni, omusajja alimu Mwoyo, omusseeko emikono gyo. Omutwale ayimirire mu maaso ga Eleyazaari kabona, nga n'ekibiina ky'abantu kyonna weekiri, omukwase obukulu nga balaba. Omwawulize ku buyinza bwo, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli kimuwulirenga. Anaagendanga eri Eleyazaari kabona, Eleyazaari n'akozesanga Wurimu n'amubuuliza kye njagala akole. Bw'atyo Eleyazaari ye anaawabulanga Yoswa, n'Abayisirayeli bonna mu byonna bye banaakolanga.” Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'atwala Yoswa, Yoswa n'ayimirira mu maaso ga Eleyazaari kabona, nga n'ekibiina ky'abantu kyonna weekiri. Musa n'assa emikono gye ku Yoswa, n'amukwasa obukulu, nga Mukama bwe yamulagira. Mukama n'agamba Musa alagire Abayisirayeli nti: “Ebiweebwayo eby'emmere eteekwa okutonerwa Mukama, nga bye biweebwayo ebyokebwa ebyakawoowo akamusanyusa, munassangayo omwoyo okubiwaayo gy'ali mu biseera byabyo ebyalagirwa.” Era abagambe nti: “Kino kye kiweebwayo ekyokebwa kye munaawangayo eri Mukama: endiga ento ennume bbiri ez'omwaka ogumu ogumu era ezitaliiko kamogo, zibenga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku. Endiga ento emu, munaagitambiranga ku makya, endiga ento endala ne mugitambira akawungeezi, nga kugenderako ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekya kilo emu ey'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita emu ey'omuzigo ogw'emizayiti, omulungi. Kino kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, ekyasooka okuweerwayo ku Lusozi Sinaayi, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekiwunyira Mukama akawoowo. Ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigendera ku buli ndiga ento emu, kinaabanga kya lita emu. Ekiweebwayo ekyo eky'ebyokunywa ekika, kye mutonera Mukama, munaakiyiwanga mu Kifo Ekitukuvu. Akawungeezi munaatambiranga endiga ento eyookubiri, nga bwe munaabanga mutambidde ey'oku makya, nga kuliko ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako, ne kiba ekiweebwayo ekyokebwa ekiwunyira Mukama akawoowo. “Ku lunaku olwa Sabbaato, munaawangayo endiga ento ennume bbiri, ezitannaweza myaka ebiri, era ezitaliiko kamogo. Era munaawangayo kilo bbiri ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era ne mwongerako n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli Sabbaato, ekyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. “Ekiweebwayo ku buli ntandikwa ya mwezi, munaawangayo eri Mukama ekitambiro ekyokebwa nga kiramba: ente envubuka bbiri, n'endiga enkulu ennume emu, endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era ezitaliiko kamogo. Olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, munaawangayo obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu ez'obuwunga obwo olwa buli nte, kilo bbiri olwa buli ndiga enkulu ennume, ne kilo emu olwa buli ndiga ento ennume. Ekiweebwayo ekyo ekyokebwa nga kiramba, kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira Mukama akawoowo. N'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, binaabanga lita bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu, olwa buli nte ennume, lita emu n'ekitundu, olwa buli ndiga nkulu ennume, ne lita emu, olwa buli ndiga ento. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli mwezi, okumalako omwaka. Okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako, munaawangayo eri Mukama embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. “Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako eneekolerwanga Mukama, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka mu mwaka. Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo, embaga emala ennaku omusanvu, era eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa eneetandikanga. Ku lunaku lw'embaga eyo olusooka, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa, ne kyokebwa nga kiramba: ente envubuka bbiri, n'endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era ezitaliiko kamogo. Olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, munaawangayo olwa buli nte ennume, kilo ssatu ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, ne kilo bbiri, olw'endiga enkulu ennume, ne kilo emu, olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento omusanvu. Era munaawangayo embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okubasabira ekisonyiwo. Munaawangayo ebyo, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ekya buli nkya. Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku okumala ennaku omusanvu, ekiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira Mukama akawoowo. Munaakiwangayo okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. “Ku lunaku olusooka olw'Embaga ey'Amakungula, era eyitibwa Embaga eya Wiiki Omusanvu, nga muwaayo eri Mukama eŋŋaano eyaakakungulwa, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekiwunyira Mukama akawoowo: ente envubuka bbiri, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu. Era olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, munaawangayo olwa buli nte ennume kilo ssatu ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, ne kilo bbiri olw'endiga enkulu ennume emu, ne kilo emu olwa buli ndiga ento ennume, ku ndiga ento ennume omusanvu. Era munaawangayo embuzi ennume emu olw'okubasonyiyisa ebibi. Munaawangayo ebyo wamu n'ebiweebwayo byabyo eby'ebyokunywa ebigenderako, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako. Era mwekkaanyenga nti bye muwaayo, tebiriiko kamogo. “Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Ku lunaku olwo, munaafuuwanga amakondeere. Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente ennume envubuka emu, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu olw'ente, kilo bbiri, olw'endiga enkulu ennume, ne kilo emu, olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento ennume omusanvu. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okubasabira ekisonyiwo. Ebyo munaabiwangayo, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba eky'olunaku olusooka mu mwezi, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, era n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, okuli n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ebigenderako, nga bwe byalagirwa. Ebiweebwayo ebyo ebyokebwa biwunyira Mukama akawoowo. “Ne ku lunaku olw'ekkumi, olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, ne mwebonereza, era temuukolenga mulimu na gumu. Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ekiwunya akawoowo: ente envubuka emu, endiga enkulu ennume emu, endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu olw'ente, kilo bbiri olw'endiga enkulu ennume, ne kilo emu olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento ennume omusanvu. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okwongereza ku kiweebwayo olw'ebibi olw'okusaba ekisonyiwo, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.” “Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Munaakolanga embaga okumala ennaku musanvu, okussaamu Mukama ekitiibwa. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ne mukyokya nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente envubuka kkumi na ssatu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu, olwa buli nte, ku nte ekkumi n'essatu, ne kilo bbiri, olwa buli ndiga, ku ndiga zombi enkulu ennume, ne kilo emu, olwa buli ndiga, ku ndiga ento ekkumi n'ennya. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ekyo munaakiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako. “Ku lunaku olwokubiri, munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako. “Ku lunaku olwokusatu, munaawangayo ente kkumi n'emu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako. “Ku lunaku olwokuna, munaawangayo ente kkumi, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. “Ku lunaku olwokutaano, munaawangayo ente mwenda, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. “Ku lunaku olw'omukaaga, munaawangayo ente munaana, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. “Ku lunaku olw'omusanvu, munaawangayo ente musanvu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. “Ku lunaku olw'omunaana, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ne mukyokya nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente emu, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. Era munaawangayo n'embuzi emu ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. “Ebyo bye munaawangayo eri Mukama ku mbaga zammwe ezaateekebwawo, bibe ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa, era ne bye muwaayo olw'okutabagana. Munaabiwangayo, nga mwongereza ku ebyo bye muwaayo okutuukiriza obweyamo bwammwe, ne ku ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.” Musa n'ategeeza Abayisirayeli byonna Mukama bye yamulagira. Musa n'agamba abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli nti: “Kino Mukama ky'alagidde. Omusajja bw'aneeyamanga okubaako ky'awa Mukama, oba bw'anaalayiranga nti amaliridde okubaako kye yeerumyamu, taavenga ku ky'alagaanyizza, wabula anaatuukirizanga ky'ayogedde. “Omuwala akyali mu maka ga kitaawe bw'aneeyamanga okubaako ky'awa Mukama, oba bw'anaalayiranga nti amaliridde okubaako kye yeerumyamu, kitaawe n'awulira obweyamo bwa muwala we, oba endagaano ye, n'atabiwakanya, olwo byonna omuwala bye yeeyamye ne by'alagaanyizza okwerumyamu, binaabanga bikakasiddwa. Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, tewaabengawo kikakasibwa ku bweyamo bwe, wadde ku ndagaano gy'akoze okubaako kye yeeyamyemu, era Mukama anaasonyiwanga omuwala oyo, kubanga kitaawe yamugaana. “Omuwala bw'anaafumbirwanga ng'alina kye yeeyama, nga ataddeyo omwoyo oba nga tataddeeyo mwoyo, oba kye yalagaanya okwerumyamu, bba bw'anaakiwuliranga n'atakiwakanya ku lunaku lw'akiwulirirako, omuwala oyo kye yeeyama oba kye yalagaanya okwerumyamu, kinaabanga kikakasiddwa. Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako, anaamenyangawo ebyo mukazi we bye yeeyama, oba bye yalagaanya nga ataddeyo oba nga tataddeeyo mwoyo. Era Mukama anaasonyiwanga omukazi oyo. Kyokka nnamwandu oba omukazi eyayawukana ne bba, anaatuukirizanga obweyamo bwe, oba buli kye yalagaanya okwerumyamu. “Era omukazi bw'anaabangako kye yeeyamira mu bufumbo, oba ky'alagaanya nga alayira, bba n'akiwulira, n'asirika busirisi n'atamugaana, byonna omukazi oyo bye yeeyama, na buli kye yalagaanya okwerumyamu, binaabanga bikakasiddwa. Naye bba bw'anaabigaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, olwo byonna omukazi oyo bye yayogera eby'obweyamo bwe, oba eby'endagaano gye yakola, tebiikakasibwenga. Bba anaabanga abimenyeewo, era Mukama anaasonyiwanga omukazi oyo. Buli bweyamo, na buli ndagaano omukazi gy'akola ng'alayira, ey'okubaako kye yeerumyamu, bba ayinza okugikakasa oba okugimenyawo. Kyokka bwe wanaayitangawo ennaku nga bba talina ky'amugamba, bba oyo anaabanga akakasizza byonna mukazi we bye yeeyama, ne bye yalagaanya, kubanga okuva ku lunaku lwe yabiwulirirako, talina kye yamugamba. Wabula bw'anaabimenyangawo ng'amaze ennaku ng'abiwulidde, ye anaavunaanibwanga omusango gwa mukazi we ogw'obutabituukiriza.” Ago ge mateeka Mukama ge yawa Musa ku bweyamo obw'omukazi alina bba, n'obw'omuwala akyali mu maka ga kitaawe, ng'omuwala oyo tannafumbirwa. Ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ab'Ekika kya Gaadi, baalina ensolo nnyingi nnyo nnyini. Kale ab'ebika ebyo byombi bwe baalaba ensi y'e Yazeri n'ey'e Gileyaadi, nga nnungi okulundiramu ensolo, ne bajja ne bagamba Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli nti: “Atarooti, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimira, ne Hesubooni, ne Eleyaale, ne Sebamu, ne Nebo, ne Bewoni, ensi Mukama gye yawangula ng'Abayisirayeli bonna balaba, nsi nnungi okulundiramu ensolo, ate naffe abaweereza bo tuli balunzi ba nsolo.” Awo ne bagamba nti: “Tukusaba okkirize, ensi eno etuweebwe ffe abaweereza bo, ebe obutaka bwaffe. Totusomosa Mugga Yorudaani.” Musa n'agamba ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni nti: “Baganda bammwe banaagenda okutabaala nga mmwe musigadde wano? Lwaki mwagala okuterebula Abayisirayeli okusomoka okuyingira ensi Mukama gye yabawa? Ekyo bakitammwe nabo kye baakola, bwe nabatuma okuva e Kadesi - Baruneya okuketta ensi. Baagenda ne batuuka mu Kiwonvu eky'Ekirimba, ne balaba ensi, ne baterebula Abayisirayeli, baleme kuyingira nsi Mukama gye yabawa. Mukama n'asunguwala nnyo ku lunaku olwo, n'alayira ng'agamba nti: ‘Mazima tewaliba n'omu ku basajja abaava e Misiri, awezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, aliyingira nsi gye nalayirira Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo, kubanga tebanneesiga, okuggyako Kalebu, mutabani wa Yefunne Omukenizi, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Abo be banneesize Nze Mukama.’ Mukama n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'ababungeeseza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa ab'ezzadde eryo lyonna abaakola ebibi, lwe baafa ne baggwaawo. Kale kaakano mmwe muzze mu kifo kya bakitammwe, olulyo lw'abakozi b'ebibi, okwongera okuleetera Mukama okusunguwalira Abayisirayeli. Mmwe bwe munaakyuka ne mumuvaako, ajja kuddamu okuleka abantu bano bonna mu ddungu, mubaleetere okuzikirizibwa.” Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni ne basemberera Musa, ne bamugamba nti: “Ka tusooke tuzimbire ensolo zaffe ebisibo, n'abaana baffe abato ebibuga. Olwo tunaaba beetegefu okukwata ebyokulwanyisa tukulemberemu Bayisirayeli bannaffe, okutuusa lwe tulibatuusa mu kitundu ky'ensi ekyabwe, abaana baffe basigale mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu, olw'okwerinda abantu ababeera mu nsi eno. Tetulikomawo mu maka gaffe, okutuusa nga buli Muyisirayeli munnaffe, amaze okufuna obutaka bwe. Tetuligabana wamu nabo ttaka, ku ludda luli olwa Yorudaani n'okweyongerayo, kubanga omugabo ogwaffe tugufunye ku ludda luno, olw'ebuvanjuba bwa Yorudaani.” Musa n'abagamba nti: “Singa ddala munaakola ekyo, ne mukwata ebyokulwanyisa, ne mugenda okutabaala nga mukulembeddemu Mukama, era mwenna abalina ebyokulwanyisa, bwe munaasomoka Omugga Yorudaani nga mukulembeddemu Mukama, okutuusa lw'alimala okuwangula abalabe be b'ayolekedde, ne yeefuga ensi eyo, olwo mulisobola okudda, ne mutabaako kye muvunaanibwa Mukama ne Bayisirayeli bannammwe. Era Mukama alikakasa ensi eno okuba obutaka bwammwe. Naye bwe mutaakole bwe mutyo, mbalabula nti munaaba mukoze ekibi ne munyiiza Mukama, era mumanye nga mulibonerezebwa olw'ebibi byammwe. Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'endiga zammwe ebisibo, era mutuukirize kye mwetemye okukola.” Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, ne bagamba Musa nti: “Ssebo, tunaakola nga bw'olagidde. Abaana baffe abato ne bakazi baffe banaasigala eno mu bibuga by'e Gileyaadi, awamu n'amagana gaffe ag'endiga n'embuzi, n'ag'ente. Naye ffe abaweereza bo, tujja kusomoka Omugga Yorudaani, nga buli omu ku ffe alina ebyokulwanyisa, tulwane olutalo nga tuduumirwa Mukama, nga ggwe ssebo bw'oyogedde.” Awo Musa ebikwata ku bo n'abiragira Eleyazaari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli. Musa n'abagamba nti: “Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, bwe balisomoka Omugga Yorudaani nga beetegese okugenda okutabaala nga baduumirwa Mukama, ne musobola okuwangula ensi eyo, kale mulibawa ensi y'e Gileyaadi okuba obutaka bwabwe. Naye bwe batalisomoka nga beetegese okugenda okutabaala, olwo obutaka bwabwe balibufuna wamu nammwe mu nsi y'e Kanaani.” Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, ne baddamu nti: “Nga Mukama bw'atulagidde ffe abaweereza bo, bwe tutyo bwe tunaakola. Tunaasomoka Omugga Yorudaani nga tuduumirwa Mukama, ne tuyingira ensi y'e Kanaani, nga twetegese okutabaala, tulyoke tufune obutaka bwaffe ku ludda luno olwa Yorudaani.” Awo Musa n'awa ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ab'Ekika kya Manasse mutabani wa Yosefu, ensi eyo yonna obwali obwakabaka bwa Sihoni kabaka w'Abaamori, n'obwali obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, n'ebibuga byamu, n'ebitundu byonna ebibyetoolodde. Ab'Ekika kya Gaadi ne bazimba ebibuga Diboni, Atarooti, Aroweri, Atarooti-Soofaani, Yazeri, Yogubeha; ne Beeti-Nimira, ne Beeti-Harani, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu. Ne bazimba n'ebisibo by'endiga. Ab'Ekika kya Rewubeeni ne bazimba ebibuga Hesubooni, ne Eleyaale, ne Kiriyatayiimu, ne Nebo, ne Baali-Miyoni nga bakyusizza amannya gaabyo. Ne bazimba ne Sibuma. Ebibuga ebyo bye baazimba, ne babituuma amannya amalala. Ab'olulyo lwa Makiri mutabani wa Manasse, ne bagenda ne balumba ensi y'e Gileyaadi, ne bagyefuga nga bagobyemu Abaamori abaagirimu. Bw'atyo Musa n'awa ab'olulyo lwa Makiri, mutabani wa Manasse, ensi y'e Gileyaadi, ne babeera omwo. Yayiri ow'omu Kika kya Manasse n'alumba era n'awamba ebimu ku byalo by'Abaamori n'abituuma “Ebyalo bya Yayiri.” Nooba n'alumba era n'awamba Kenaati n'ebyalo byakyo, n'akituuma Nooba, erinnya lye. Bino bye bifo Abayisirayeli bye baasiisiramu nga bali mu bibinja byabwe, bwe baava mu nsi y'e Misiri nga bakulemberwa Musa ne Arooni. Musa yawandiikanga, nga Mukama bwe yamulagira, ebifo bye baavangamu okweyongerayo mu lugendo lwabwe. Bino bye bifo nga bwe baavanga mu kimu okutuuka mu kirala. Abayisirayeli baasitula okuva e Rameseesi eky'e Misiri, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogusooka, lwe lunaku olwaddirira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne bagendera mu kitiibwa, nga Abamisiri bonna balaba. Abamisiri baali bakyaziika abaggulanda baabwe bonna, Mukama be yatta mu bo, n'alaga bw'ali ow'obuyinza okusinga balubaale baabwe. Abayisirayeli bwe baava e Rameseesi, baasiisira e Sukkoti. Bwe baava e Sukkoti, ne basiisira mu Etamu, ku mabbali g'eddungu. Bwe baava mu Etamu, ne baddayo emabega, ne bagenda e Pihahirooti, ebuvanjuba bwa Baali - Zefoni, ne basiisira okumpi ne Migidooli. Bwe baava e Pihahirooti, ne bayita mu Nnyanja Emmyufu wakati, ne bayingira eddungu. Ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu mu Ddungu ery'e Etamu, ne basiisira e Maara. Ne basitula okuva e Maara, ne batuuka mu Elimu. Mu kifo ekyo, waaliwo enzizi z'amazzi kkumi na bbiri, n'enkindu nsanvu. Ne basiisira awo. Bwe baava mu Elimu, ne basiisira ku lubalama lw'Ennyanja Emmyufu. Nga bavudde ku Nnyanja Emmyufu, ne basiisira mu Ddungu ly'e Siini. Bwe baava mu Ddungu ly'e Siini, ne basiisira e Dofuka. Ne basitula okuva e Dofuka, ne basiisira mu Aluusi. Bwe baava mu Aluusi, ne basiisira e Refidiimu, awataali mazzi bantu ge bayinza kunywa. Ne basitula okuva e Refidiimu, ne basiisira mu ddungu ly'e Sinaayi. Bwe baasitula okuva mu Ddungu ly'e Sinaayi, ne basiisira e Kiburooti-Hattaava. Ne bava e Kiburooti-Hattaava, ne basiisira e Hazerooti. Ne bava e Hazerooti, ne basiisira e Ritima. Bwe baava e Ritima, ne basiisira e Rimmoni-Pereezi. Bwe baava e Rimmoni-Pereezi, ne basiisira e Libuna. Ne basitula okuva e Libuna, ne basiisira e Rissa. Bwe baava e Rissa, ne basiisira e Kehelaata. Ne bava e Kehelaata, ne basiisira ku Lusozi Saaferi. Bwe baava ku Lusozi Saaferi, ne basiisira e Haraada. Ne basitula okuva e Haraada, ne basiisira e Makelooti. Bwe baava e Makelooti, ne basiisira e Taahati. Ne bava e Taahati, ne basiisira e Taara. Ne bava e Taara, ne basiisira e Mituka. Ne bava e Mituka, ne basiisira e Hasimoona. Bwe baava e Hasimoona, ne basiisira e Moserooti. Bwe baava e Moserooti, ne basiisira e Bene-Yaakani. Ne bava e Bene-Yaakani, ne basiisira e Hoori-Hagidigaadi. Ne bava e Hoori-Hagidigaadi, ne basiisira e Yotubata. Bwe baava e Yotubata, ne basiisira mu Abiroona. Ne bava mu Abiroona, ne basiisira mu Eziyoni-Geberi. Ne basitula okuva mu Eziyoni-Geberi, ne basiisira mu Ddungu ly'e Ziini, ye Kadesi. Bwe baasitula okuva e Kadesi, ne basiisira ku Lusozi Hoori, ku njegoyego z'ensi ya Edomu. Awo Arooni kabona, n'ayambuka ku Lusozi Hoori, nga Mukama bwe yalagira, n'afiira eyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokutaano ogw'omwaka ogw'amakumi ana, okuva Abayisirayeli lwe baava mu nsi y'e Misiri. Arooni we yafiira ku Lusozi Hoori, yali awangadde emyaka kikumi mu abiri mu esatu. Kabaka w'e Kanaani eyabeeranga mu Aradi mu bukiikaddyo bw'ensi eyo Kanaani, n'awulira nti Abayisirayeli bajja. Abayisirayeli bwe baasitula okuva ku Lusozi Hoori, ne basiisira e Zalumona. Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punooni. Bwe baava e Punooni ne basiisira mu Obooti. Ne bava mu Obooti ne basiisira mu Yiye-Abariimu, mu nsi ya Mowaabu. Bwe baava e Yiyiimu, ne basiisira e Diboni-Gaadi. Ne bava e Diboni-Gaadi, ne basiisira mu Alumooni-Dibulatayimu. Bwe baava mu Alumooni-Dibulatayimu, ne basiisira mu nsozi z'e Abariimu, okwolekera Olusozi Nebo. Bwe baasitula ne bava mu nsozi z'e Abariimu, ne basiisira mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Mugga Yorudaani, okwolekera Yeriko. Ne basiisira ku Mugga Yorudaani, okuva e Beti-Yesimooti okutuukira ddala mu Abeeli-Sittimu, mu nsenyi z'e Mowaabu. Eyo mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Mugga Yorudaani, okwolekera Yeriko, Mukama n'agamba Musa nti: “Yogera n'Abayisirayeli obagambe nti: ‘Bwe mulisomoka Omugga Yorudaani ne muyingira ensi y'e Kanaani, muligobamu abatuuze baamu be mulisangamu, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe byonna ebyole mu mayinja, n'ebiweeseddwa, era mulisaanyawo n'ebifo byabwe mwe basinziza balubaale baabwe. Mulyefuga ensi eyo, ne mugibeeramu, kubanga ngibawadde mmwe ebe yammwe. Muligigabana mu bika byammwe ne mu nnyumba za bajjajjammwe, nga mukuba kalulu, abangi nga mubawa ekitundu ky'ensi kinene, n'abatono ne mubawa kitono. Buli muntu akalulu we kalimuwa, we waliba awawe, ng'agabanira mu kika kye. Naye bwe mutaligobamu batuuze be mulisanga mu nsi eyo, abo be mulirekamu, balibafuukira ebisubi ebibagwa mu maaso, n'amaggwa agabafumita mu mbiriizi, era banaabatawanyanga mu nsi eyo gye mulibeeramu. Bwe mutalibagobamu, olwo nammwe ndibazikiriza nga bwe nalowooza okuzikiriza bo.’ ” Mukama n'agamba Musa alagire Abayisirayeli abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanaani, eyo y'ensi eriba obutaka bwammwe, ensalo zaayo zonna ziriba bwe ziti: ensalo yammwe ey'omu bukiikaddyo eriva ku ddungu ly'e Ziini, n'eyita ku nsalo ya Edomu. Ebuvanjuba, ensalo yammwe eyo ey'ebukiikaddyo, eritandikira ku nkomerero y'Ennyanja ey'Omunnyo. Ensalo yammwe erikyukira ebukiikaddyo okwolekera ekkubo eryambuka ku Akirabbiimu, ne yeeyongerayo n'etuuka e Ziini, n'etuukira ddala e Kadesi-Baruneya, mu bukiikaddyo. Olwo erikyukira e Hazari-Addari, ne yeeyongerayo mu Azimooni. Ensalo erikyuka okuva mu Azimooni, n'eyolekera Akagga k'e Misiri, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. “Ensalo yammwe ey'ebugwanjuba, eriba Ennyanja Eyaawakati. “Mulyerambira ensalo yammwe ey'ebukiikakkono, okuva ku Nnyanja Eyaawakati okutuuka ku Lusozi Hoori. Okuva ku Lusozi Hoori, muliramba okutuuka awayingirirwa e Hamati, okukoma ku Zedadi. Awo ensalo w'eriva n'etuuka e Zefirooni, n'ekoma e Hazari-Enaani. Eyo ye eriba ensalo yammwe ey'ebukiikakkono. “Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba, okuva ku Hazari-Enaani, okutuuka ku Sefamu. Ensalo eyo eriva ku Sefamu n'ekka e Ribula, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Ayiini, n'ekkirira okutuuka ku lubalama olw'ebuvanjuba olw'ennyanja y'e Kinnereti. Ensalo eryeyongera okukka, n'etuuka ku Mugga Yorudaani, n'ekoma ku Nnyanja Ey'Omunnyo. “Eyo ye eriba ensi yammwe n'ensalo zaayo ez'oku njuyi zonna.” Musa n'alagira Abayisirayeli ng'agamba nti: “Eyo ye nsi gye muligabana nga mukuba akalulu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekitundu, kubanga ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'ab'Ekika kya Manasse, baamala dda okuweebwa obutaka obwabwe, nga bubaweebwa okusinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe. Ebika ebyo ebibiri n'ekitundu, byamala dda okuweebwa obutaka obwabyo emitala wa Yorudaani, ku ludda olw'ebuvanjuba, okwolekera Yeriko.” Mukama n'agamba Musa nti: “Gano ge mannya g'abantu abalibagabanyizaamu ensi eriba obutaka: Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Era mulitwala omukulembeze omu okuva mu buli kika, okugabanyaamu ensi. Gano ge mannya g'abantu abo: Mu Kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefunne; mu Kika kya Simyoni, Semweli mutabani wa Ammihudi; mu Kika kya Benyamiini, Elidaadi mutabani wa Kisulooni; mu Kika kya Daani, Bukki omufuzi, mutabani wa Yoguli; mu b'olulyo lwa Yosefu, mu Kika kya Manasse, Hanniyeeli mutabani wa Efodi; mu Kika kya Efurayimu, Kamweli omufuzi, mutabani wa Sifutaani; mu Kika kya Zebbulooni, Elizafani omufuzi, mutabani wa Parunaaki; mu Kika kya Yissakaari, Pawulutiyeeli omufuzi, mutabani wa Azzaani; mu Kika kya Aseri, Ahihudi omufuzi, mutabani wa Selomi. Mu Kika kya Nafutaali, Pedaheeli omufuzi, mutabani wa Ammihudi.” Abo be bantu Mukama be yalagira okugabanyizaamu Abayisirayeli obutaka mu nsi y'e Kanaani. Mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yorudaani okwolekera Yeriko, Mukama gye yagambira Musa nti: “Lagira Abayisirayeli, bawe Abaleevi ebibuga eby'okubeerangamu, nga batoola ku ebyo Abayisirayeli abo bye baagabana okuba obutaka bwabwe, era babawe n'ettaka eryetoolodde ebibuga ebyo. Ebibuga ebyo binaabanga bya Baleevi babibeerengamu. N'ettale lyakwo linaabanga lyabwe okulundirangamu amagana gaabwe ag'ente, n'ag'endiga n'embuzi, n'ensolo zaabwe endala zonna. “Ettale eryetoolodde ebibuga bye muliwa Abaleevi, liriba lya mita ebikumi bina mu ataano okuva ku kisenge ky'ekibuga, okwetooloola enjuyi zonna. Era muligera ebweru w'ekibuga mita lwenda ku ludda olw'ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw'ebukiikaddyo, mita lwenda ku ludda olw'ebugwanjuba, mita lwenda ku ludda olw'ebukiikakkono ekibuga nga kye kiri wakati. Eryo lye liriba ettale ery'okulundiramu, eryetoolodde ebibuga byabwe. “Ebibuga mukaaga ku ebyo bye muliwa Abaleevi, biriba bibuga bya buddukiro ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde. Ku ebyo, mulibongerako ebibuga ebirala amakumi ana mu bibiri. Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi, biriba amakumi ana mu munaana, nga biriko ettale lyakwo. Ebibuga bye muliggya ku butaka bw'Abayisirayeli okubigaba, abangi mulibaggyako bingi, n'abatono mulibaggyako bitono. Buli kika kiriwa Abaleevi ebibuga, okusinziira ku bungi bw'ebibuga bye kyagabana.” Mukama n'agamba Musa ayogere n'Abayisirayeli abagambe nti: “Bwe mulisomoka Omugga Yorudaani ne muyingira ensi y'e Kanaani, mulyerondera ebibuga eby'obuddukiro ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde. Ebibuga ebyo bye munaddukirangamu okuwona omuwoolezi w'eggwanga, buli anaabanga asse omuntu alemenga kuttibwa nga tannawozesebwa mu lujjudde lw'abantu. Ebibuga bye muliwaayo okuba eby'obuddukiro, biriba mukaaga. Muliwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olwa Yorudaani, n'ebirala bisatu mu nsi y'e Kanaani, bibenga bibuga bya buddukiro. Ebibuga ebyo omukaaga, binaabanga bya buddukiro bwa Bayisirayeli, n'omugwira azze obugenyi, n'oyo abeerera ddala mu bo. Buli anattanga omuntu nga tagenderedde, anaayinzanga okuddukira mu kimu ku byo. “Naye oyo anaakubisanga omuntu ekyuma n'amutta, oyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa. Era oyo anaakwatanga ekissi eky'ejjinja n'akikubisa omuntu, omuntu oyo n'afa, oyo akoze ekyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa. Era oyo anaakwatanga ekissi eky'omuti n'akikubisa omuntu, omuntu oyo n'afa, oyo akoze ekyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa. Owooluganda olw'okumpi olw'omuntu attiddwa, yennyini ye anattanga omutemu oyo. Bw'anaamusisinkananga, anaamuttanga. “Singa oli akyawa omuntu n'amusindika n'agwa, oba singa amwekwekerera n'amukasuukirira ekintu, omuntu oyo n'afa, oba singa amukuba oluyi, oba ekikonde, olw'obulabe, omuntu oyo n'afa, oyo amukubye, mutemu, era taalemenga kuttibwa. Owooluganda olw'okumpi olw'omuntu oyo attiddwa, anattanga omutemu oyo ng'amusisinkanye. “Naye bw'aba nga yamusindika mu butanwa, awatali bulabe, n'agwa, oba nga yabaako ky'amukasuukirira nga tamuteeze, era oba nga yaddira ejjinja eriyinza okutta omuntu, n'alimusuulako nga tamulabye, omuntu oyo n'afa, sso nga tabangako mulabe we, era nga teyagenderera kumukolako kabi, kale ekibiina ky'abantu kinaasalangawo mu lujjudde, wakati w'oyo eyakuba, n'owooluganda olw'okumpi olw'omufu, nga bagoberera amateeka gano. Ekibiina ky'abantu kinaawonyanga oyo eyatta nga tagenderedde, ne kimuggya mu mikono gy'owooluganda awoolera eggwanga olw'omufu, ne kimuzzaayo mu kibuga eky'obuddukiro kye yali addukiddemu, n'abeera omwo, okutuusa Ssaabakabona aliko lw'anaafanga. Naye eyatta omuntu bw'anaavanga mu kibuga eky'obuddukiro kye yaddukiramu, owooluganda omuwoolezi w'eggwanga n'amusanga ebweru waakyo, n'amutta, oyo amusse taabengako musango gwa butemu, kubanga oyo eyatta omuntu, yandibadde abeerera ddala mu kibuga ekyo eky'obuddukiro kye yaddukiramu, okutuusa nga Ssaabakabona amaze okufa. Ssaabakabona ng'amaze okufa, olwo eyatta omuntu anaddangayo ku butaka bwe. Ago ge ganaabanga amateeka ge munaakuumanga mmwe, n'abalibaddirira bonna, buli we munaabeeranga. “Anaabanga asse omuntu, anattibwanga nga waliwo abajulizi waakiri babiri abamulumiriza ogw'obutemu. Bwe wanaabangawo omujulizi omu yekka amulumiriza, omuntu oyo tattibwenga. Temukkirizenga kintu na kimu kusasulwa olw'okununula obulamu bw'omutemu asaliddwa ogw'okufa, wabula taalemenga kuttibwa. Era oyo eyaddukira mu kibuga eky'obuddukiro, temuumukkirizenga kubaako ky'asasula asobole okudda ewaabwe, nga Ssaabakabona tannafa. Bwe mulikola ekyo, muliba mwonoonye ensi gye mubeeramu, kubanga obutemu bwonoona ensi. Tewali kiyinza kufunira nsi kisonyiwo olw'obutemu obwakolebwa mu yo, okuggyako okutta oyo eyatemula. Kale temwonoonanga nsi gye mubeeramu, era nange gye mbeeramu, kubanga Nze Mukama, mbeera wamu n'Abayisirayeli.” Awo abakulu b'ennyumba mu lulyo lw'abo abasibuka mu Gileyaadi, mutabani wa Makiri era muzzukulu wa Manasse, omu ku batabani ba Yosefu, ne bajja eri Musa n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli. Ne bagamba nti: “Ssebo, Mukama yakulagira okugabira Abayisirayeli ensi okuba obutaka bwabwe obw'ensikirano ng'okuba kalulu. Mukama era yakulagira, obutaka obw'ensikirano obwa muganda waffe Zelofehaadi okubuwa bawala be. Bwe balifumbirwa abasajja ab'ebika ebirala eby'Abayisirayeli, obutaka bwabwe obw'ensikirano buliggyibwa ku butaka obw'ensikirano obwaweebwa bakitaffe, ne bugattibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ebika ebirala bye balifumbirwamu, ekyo ne kikendeeza ku butaka bwaffe obw'ensikirano. Omwaka gw'okujaguza ogw'Abayisirayeli bwe gulituuka, kale obutaka obw'ensikirano obwa bawala ba Zelofehaadi buligattirwa ddala ku butaka obw'ensikirano obw'ekika mwe baliba bafumbiddwa, bwe butyo ne buggyibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ekika kyaffe.” Awo Musa n'alagira Abayisirayeli nga Mukama bwe yamugamba. N'agamba nti: “Ab'Ekika kya mutabani wa Yosefu kye bagamba kituufu. Kale kino Mukama ky'alagidde ku bawala ba Zelofehaadi. Agambye nti: ‘Ba ddembe okufumbirwa gwe basiimye, naye bafumbirwe ba mu kika kya kitaabwe.’ Tewaabenga butaka bwa nsikirano mu Bayisirayeli, obunaakyukanga okuggyibwa mu kika ekimu ne buzzibwa mu kirala. Buli Muyisirayeli anaakuumanga obutaka obw'ensikirano obw'ekika kya kitaawe. Buli muwala anaafunanga obutaka obw'ensikirano mu kika eky'Abayisirayeli, anaafumbirwanga musajja wa mu kika ekyo, buli Muyisirayeli alyoke asobolenga okufuna obusika obw'ensikirano obwa bajjajjaabe. Bwe kityo tewaabenga busika bwa nsikirano bukyuka kuggyibwa mu kika kimu, kuzzibwa mu kirala. Buli kika eky'Abayisirayeli kinaakuumanga obusika bwakyo obw'ensikirano.” Nga Mukama bwe yalagira Musa, era bwe batyo ne bawala ba Zelofehaadi bwe baakola. Mahula, Tiruza, ne Hogula, ne Milika, ne Noowa, bawala ba Zelofehaadi, ne bafumbirwa batabani ba baganda ba kitaabwe. Baafumbirwa ba mu Kika kya Manasse, mutabani wa Yosefu, obusika bwabwe obw'ensikirano ne busigala mu kika kya kitaabwe. Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa Abayisirayeli ng'ayita mu Musa, mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yorudaani, okwolekera Yeriko. Bino bye bigambo Musa bye yagamba Abayisirayeli bonna, nga bali mu ddungu, ku ludda lw'ebuvanjuba bw'omugga Yorudaani. Baali mu kiwonvu kyagwo okumpi ne Sufu, wakati w'akabuga Parani ku ludda olumu, n'obubuga Tofeli, Labani, Hazerooti ne Dizahabu ku ludda olulala. Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu okuva e Herobu, okuyita mu nsi ya Seyiri ey'ensozi, okutuuka e Kadesi Baruneya. Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu, mu mwaka ogw'amakumi ana ng'Abayisirayeli bavudde mu Misiri, Musa n'agamba Abayisirayeli byonna Mukama bye yamulagira okubagamba. Bino byabaawo ng'amaze okuwangula Sihoni kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyabeeranga mu Asitarooti ne mu Edereyi. Emitala w'Omugga Yorudaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatandikira okunnyonnyola amateeka gano, n'agamba nti: “Nga tuli ku Lusozi Horebu, Mukama Katonda waffe yayogera naffe ng'agamba nti: ‘Ekiseera kye mubadde ku lusozi luno kimala. Kaakano musituke, mwongere olugendo lwammwe. Mugende mu nsi ey'ensozi ey'Abaamori, ne mu bitundu byonna ebigiriraanye: mu kiwonvu kya Yorudaani, ne mu nsi ey'ensozi, ne mu lusenyi, ne mu kitundu eky'ebukiikaddyo, ne ku lubalama lw'Ennyanja Eyaawakati. Mugende mu nsi y'Abakanaani, ne mu nsozi z'e Lebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene Ewufuraate. Eyo ye nsi Nze Mukama gye nneerayirira okuwa bajjajjammwe Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo, ne bazzukulu baabwe. Yiiyo ngibalaze, mugende mugyefuge.’ ” Musa n'agamba abantu nti: “Nange mu kiseera ekyo nabagamba mmwe nti: ‘Sisobola kubakulembera nzekka. Mukama Katonda wammwe abafudde bangi, era kaakano muli bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu. Mukama Katonda wa bajjajjammwe ayongere okubafuula abangi okusingawo emirundi lukumi, era abawe omukisa nga bwe yabasuubiza. Naye nze nzekka nsobola ntya okwetikka obuvunaanyizibwa obwenkanidde awo, obw'okubalabirira n'okubamalira ennyombo n'enkaayana zammwe? Mulonde abasajja abagezi, abategeevu era abamanyifu mu bika byammwe, abo mbafuule abakulembeze bammwe.’ Ne munziramu nti: ‘Kirungi, tukole nga bw'ogambye.’ Kale ne nzirira abakulembeze abagezi era abamanyifu be mwalonda mu bika byammwe, ne mbafuula abakulu bammwe, abakulira abantu olukumi lukumi, n'ebikumi bikumi, n'amakumi ataano ataano, n'ekkumi kkumi. Ne nteekawo n'abakulembeze abalala mu bika byammwe. “Era mu kiseera ekyo, ne nkuutira abalamuzi bammwe nti: ‘Muwulirizenga ensonga za baganda bammwe, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyammwe, era n'egyo egizingiramu abagwira ababeera mu mmwe. Temubeeranga na kyekubiira mu nsala yammwe. Muwulirizenga kyenkanyi abato n'abakulu. Temubangako muntu n'omu gwe mutiisa maaso, kubanga emisango mugisala mu buyinza bwa Katonda. Era ensonga eneebanga ebalemye, mugireetanga gye ndi, ne ngiwulira.’ Era mu kiseera ekyo, nabalagira byonna bye musaana okukola “Twakola nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira, ne tuva ku Horebu, ne tutambula okuyita mu ddungu eryo lyonna eddene era ery'entiisa lye mwalaba, nga tukutte ekkubo eriyita mu nsi ey'ensozi ey'Abaamori, ne tutuuka e Kadesi Baruneya. Ne mbagamba mmwe nti: ‘Mutuuse mu nsi ey'ensozi ey'Abaamori, Mukama Katonda waffe gy'atuwa. Eyo ye nsi Mukama Katonda wammwe gy'abalaze. Mwambuke, mugyefuge, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabagamba. Temutya era temutekemuka’. “Mwenna ne mujja gye ndi ne muŋŋamba nti: ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’ “Nalaba ng'ekyo kirungi. Ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika. Ne basituka ne bambuka mu nsi ey'ensozi, ne batuuka mu Kiwonvu kya Esukooli, ne bakiketta. Ne banogayo ku bibala, ne babireeta gye tuli. Ne batubuulira nti: ‘Ensi Mukama Katonda waffe gy'atuwa, nnungi.’ “Naye mmwe ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, ne mugaana okugiyingira. Ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, nga mugamba nti: ‘Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y'e Misiri, okutuwaayo mu mikono gy'Abaamori batuzikirize. Tulaga wa eyo? Bannaffe batumazeemu amaanyi nga bagamba nti abantu abaliyo banene era bawanvu okutusinga. Ebibuga binene. Byazimbibwako ebigo ebigulumivu okutuuka ku ggulu, era nti baalabayo n'abaana ba Anaki! ’ “Nze ne mbagamba mmwe nti: ‘Temutya era baleme kubatekemula. Mukama Katonda wammwe abakulemberamu, ye anaabalwanirira mmwe, nga bwe mwalaba byonna bye yabakolera e Misiri ne mu ddungu. Mu lugendo lwonna lwe mwatambula nga muli eyo mu ddungu okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omuntu bw'asitula omwana we.’ Naye wadde ng'ebyo byali bwe bityo, temwakkiriza kwesiga Mukama Katonda wammwe, eyabakulemberangamu okubanoonyeza ekifo eky'okusimbamu eweema zammwe. Yasinziiranga mu mpagi ey'omuliro ekiro, ne mu mpagi ey'ekire emisana, okubalaga ekkubo lye munaayitamu. “Awo Mukama n'awulira bye mwayogera, n'asunguwala, n'alayira ng'agamba nti: ‘Tewali n'omu ku b'omulembe guno omubi, aliraba ensi ennungi gye nneerayirira okuwa bajjajjaabwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne. Oyo ye aligiraba. Era ye n'abaana be ndibawa ensi gye yalambula, kubanga yannywererako mu byonna.’ Era olw'okubeera mmwe, nange Mukama yansunguwalira, n'agamba nti: ‘Naawe Musa, toliyingira mu nsi eyo. Omuweereza wo Yoswa, mutabani wa Nuuni, ye aligiyingiramu. Mugumye omwoyo, kubanga ye alituusa Abayisirayeli mu nsi eyo ne bagyefuga.’ “Era abaana bammwe abo, be mwagamba nti: ‘Balinyagibwa, n'abaana bammwe abatannayawula kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa bo, ne bagyefuga. Naye mmwe mukyuke mutambule nga mudda mu ddungu, nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emmyufu.’ “Ne munziramu nti: ‘Twakola ekibi ne tunyiiza Mukama. Naye kaakano ka tugende, tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli omu ku mmwe n'ayambalira ebyokulwanyisa bye, nga mulowooza nti kyangu okulumba ensi ey'ensozi. “Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Bagambe nti tebagenda, era tebalwana, kubanga nze siri wamu nabo. Abalabe baabwe bajja kubawangula.’ Ne mbabuulira, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mwekuluntaza, ne mugenda mu nsi ey'ensozi. Awo Abaamori abaali mu nsi eyo ey'ensozi, ne bavaayo okubalumba nga bataamye ng'enjuki. Ne babawondera okutuukira ddala e Haruma, ne babawangulira eyo mu nsi ey'ensozi ey'e Seyiri. Ne mukomawo ne mukaabirira Mukama abayambe. Naye Mukama n'atabawuliriza era n'atabafaako. Mwalwa nnyo e Kadesi, okusinziira ku nnaku ennyingi ze mwamalayo.” “Awo ne tukyusa obuwufu, ne tutambula nga tudda mu ddungu, nga tukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba. Ne tumala ennaku nnyingi nga twetoloolera mu nsi ey'ensozi ey'e Seyiri. “Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Mumaze ekiseera ekimala nga mwetooloola ensi eno ey'ensozi. Kaakano mukyuse obuwufu, mugende mu bukiikakkono.’ Era n'aŋŋamba nti: ‘Lagira abantu obagambe nti: Mugenda kuyita mu nsi ya baganda bammwe, bazzukulu ba Esawu, ababeera mu Seyiri. Bajja kubatya. Naye mwegendereze nnyo. Temulwana nabo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu eky'ensi yaabwe, wadde akatundu akatono akalinnyibwamu ekigere, kubanga olusozi Seyiri naluwa Esawu okuba obutaka bwe. Munaawangayo nsimbi okubagulako emmere ne mulya, era munaawangayo nsimbi okubagulako amazzi, ne munywa.’ “Mukama Katonda wammwe, abawadde mmwe omukisa mu byonna bye mukola. Abalabiridde nga mutambula mu ddungu lino eddene. Emyaka gino amakumi ana, Mukama Katonda wammwe abadde nammwe, ne mutabaako kye mujula. “Awo ne twebalama baganda baffe, bazzukulu ba Esawu, ababeera ku Seyiri. Ne tukwata ekkubo erigenda mu ddungu, okuva mu Elati ne Eziyoni Geberi. Ne tukyuka, ne tuyita mu kkubo ery'omu ddungu ly'e Mowaabu. Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Temutawaanya bantu b'e Mowaabu, era temubaggulako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu ku nsi yaabwe okuba obutaka bwammwe, kubanga ekibuga Ari nakiwa dda bazzukulu ba Looti okuba obutaka bwabwe.’ ” (Mu biseera ebyo eby'edda, mu Ari mwabeerangamu Abeemi, abaali eggwanga ekkulu era eddene, era nga bawagguufu ng'Abaanaki. Nabo baayitibwanga Bareefa ng'Abaanaki, naye nga Abamowaabu babayita Beemi. Abahoori nabo baabeeranga ku Seyiri mu kusooka. Naye bazzukulu ba Esawu bwe bajja, ne babagobako, ne bazikiriza eggwanga lyabwe, ne basenga mu kifo kyabwe, okufaananira ddala ng'Abayisirayeli bwe baakola mu nsi Mukama gye yabawa okuba obutaka bwabwe). “ ‘Kale kaakano musituke, musomoke akagga Zeredi.’ Ne tusomoka akagga Zeredi. Okuva lwe twava e Kadesi Baruneya, okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi, gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Abasajja abaserikale bonna ab'omulembe ogwo, baali bafudde nga baweddewo mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira. Mukama yabalwanyisa okutuusa lwe yabazikiriza n'abamalirawo ddala mu lusiisira. “Awo abasajja abaserikale bonna bwe baamala okufa ne baggwaawo, Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Olwaleero mujja kusala ensalo ya Mowaabu nga muyita mu Ari. Bwe munaasemberera ensi ey'Abammoni temubatawaanya era temubaggulako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu eky'ensi yaabwe. Ensi eyo nagiwa dda bazzukulu ba Looti okuba obutaka bwabwe.’ ” Ensi eyo era eyitibwa ya Bareefa. Abareefa be baagibeerangamu edda. Naye Abammoni babayita Bazamuzuumu. Baali ggwanga kkulu ery'abantu abangi era abawagguufu ng'Abaanaki. Naye Mukama n'abazikiriza, Abammoni ne balyoka basenga mu nsi eyo ne badda mu kifo kya bali. Mukama era bw'atyo bwe yakolera bazzukulu ba Esawu, ababeera ku Seyiri. Yazikiriza Abahoori, olwo bazzukulu ba Esawu ne basenga mu nsi eyo, ne badda mu kifo kya bali, n'okutuusa kati. N'Abavvi abaabeeranga mu byalo okutuukira ddala e Gaaza, Abakafutoori abaava e Kafutoori baabazikiriza, ne badda mu kifo kyabwe. “Bwe twamala okusala ensalo ya Mowaabu, Mukama n'agamba nti: ‘Musituke, mutambule, muyite mu Kiwonvu Arunoni. Sihoni Omwamori, kabaka w'e Hesubooni, mmuwaddeyo awamu n'ensi ye mu mikono gyammwe, mumugguleko olutalo, mutandike okwefuga ensi ye. Okuva olwaleero, amawanga agali ku nsi yonna nja kugakuba entiisa, gabatye, buli abanaawulira ettutumu lyammwe, bakankane era beeraliikirire.’ “Nga tuli mu ddungu ly'e Kedemooti, ne ntumira Sihoni kabaka w'e Hesubooni obubaka obw'emirembe, nga ŋŋamba nti: ‘Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kukwata kkubo lyokka, awatali kuwunjawunja kudda ku ddyo wadde ku kkono. Emmere gye tulya n'amazzi ge tunywa ojja kubituguza buguza, tukusasulemu ensimbi. Kye tusaba kwe kutukkiriza okutambula, tuyite mu nsi yo, okutuuka lwe tunaasomoka Omugga Yorudaani ne tuyingira mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa. Tukkirize, nga bazzukulu ba Esawu ababeera ku Seyiri n'Abamowaabu ababeera mu Ari, bwe baatukkiriza okuyita mu nsi yaabwe.’ “Kyokka Sihoni kabaka w'e Hesubooni n'atatuganya kuyita mu nsi ye, kubanga Mukama Katonda wammwe yakalubya omwoyo gwe, n'amuwaganyaza omutima, tulyoke tumuwangule buwanguzi, twefuge ensi ye, mwe tuli kati. “Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Ntandise okubawa Sihoni n'ensi ye; kale mugiwangule, mugibeeremu.’ Sihoni ne yeesowolayo n'abantu be bonna okutwolekera mu lutalo e Yahazi. Mukama Katonda waffe n'amutuwa ne tumuwangula ne batabani be n'abantu be bonna. Ne tunyaga ebyali ebibuga bye byonna mu budde obwo. Ne tuzikiriza abantu bonna abasajja n'abakazi, n'abaana abato, awatali kulekawo n'omu. Ente zokka ze twatwala nga gwe munyago, awamu n'ebintu bye twanyaga mu bibuga. Okuva ku Aroweri ku njegoyego z'Ekiwonvu Arunoni, n'ekibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, okutuukira ddala e Gileyaadi, tewali kibuga kyatulema olw'obugulumivu bw'ebigo byakyo. Byonna Mukama Katonda waffe yabituwa ne tubiwamba. Naye tetwasemberera nsi y'Abammoni, n'olubalama lw'Omugga Yabboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, wadde ebifo ebirala byonna Mukama Katonda waffe gye yatugaana okugenda. “Ebyo bwe byaggwa, ne tukyuka ne tukwata ekkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka w'e Basani ne yeesowolayo n'abantu be bonna okutwolekera mu lutalo mu Edereyi. Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Tomutya, kubanga nja kumuwaayo ye, n'abantu be bonna, n'ensi ye mu mikono gyo, omukoleko kye wakola ku Sihoni kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni.’ “Awo Mukama Katonda waffe n'atuwa ne Ogi, kabaka w'e Basani n'abantu be, bonna ne tubatta obutalekaawo n'omu. Ne tuwamba ebyali ebibuga bye byonna mu kiseera ekyo. Tewali kibuga na kimu kye tutaabawambako. Byonna awamu byali ebibuga nkaaga eby'omu kitundu kyonna ekya Arugobu, ebyali obwakabaka bwa Ogi mu Basani. Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwako ebigo ebigulumivu, n'emiryango egirimu enzigi ezirina ebisiba. Waaliwo n'ebyalo bingi nnyo ebitaaliko bigo. Ne tusaanyaawo ebibuga byonna, ne tuzikiriza abantu bonna abasajja n'abakazi n'abaana abato, nga bwe twakola mu bibuga ebyali ebya Sihoni kabaka w'e Hesubooni. Naye ente zonna n'ebintu bye twanyaga mu bibuga, ne tubyetwalira nga gwe munyago gwaffe. “Era mu kiseera ekyo, ne tuwamba ensi za bakabaka abo bombi ab'Abaamori abaabeeranga emitala wa Yorudaani, okuva ku Kiwonvu Arunoni okutuuka ku Lusozi Herumooni. Olusozi Herumooni, Abasidoni baluyita Siriyooni, ate Abaamori baluyita Seniri. Twawamba ekitundu kyonna eky'obwakabaka bwa Ogi mu Basani: ebibuga byonna eby'omu lusenyi, n'ebitundu byonna ebya Gileyaadi n'ebya Basani, okutuukira ddala e Saleka ne Edereyi. “Ogi kabaka w'e Basani ye yekka eyali akyasigaddewo ku Bareefa. Ekitanda kye eky'ekyuma kyali kya mita nnya obuwanvu, ne mita kumpi bbiri obugazi, mu kipimo ekitongole abantu kye baapimisanga. Ekitanda ekyo kikyaliyo mu Rabba, ekibuga ky'Abammoni. “Bwe twefuga ensi eyo mu biseera ebyo, ne mpa Abarewubeeni n'Abagaadi ekitundu ekitandikira ku Aroweri, ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu Arunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi ez'e Gileyaadi, n'ebibuga byamu. Ekitundu kya Gileyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna obwali obwakabaka bwa Ogi, kwe kugamba ekitundu kyonna ekya Arugobu, ne mbiwa ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse.” (Basani yonna yali eyitibwa nsi ya Bareefa. Yayiri ow'omu Kika kya Manasse n'agabana ekitundu kyonna eky'e Arugobu, kye ky'e Basani, okutuukira ddala ku nsalo n'Abagesuri n'Abamaaka. Ebyalo ebyo byonna n'abituuma erinnya lye, era bimanyiddwa ng'Ebyalo bya Yayiri n'okutuusa kati.) “Makiri ne mmuwa Gileyaadi. Abarewubeeni n'Abagaadi ne mbawa ekitundu okuva ku Gileyaadi okutuuka ku Kiwonvu Arunoni, ng'amakkati g'Ekiwonvu ye nsalo mu bukiikaddyo, ate Omugga Yabboki nga ye nsalo n'Abammoni mu bukiikakkono. Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku Mugga Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya mu bukiikakkono, okukkira ddala ku Nnyanja y'Omunnyo mu bukiikaddyo, n'okutuuka ku bigere by'Olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba. “Ne mbalagira mu kiseera ekyo nti: ‘Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugyefuga. Kale abaserikale bammwe bonna, basomoke Yorudaani nga babagalidde ebyokulwanyisa, bakulemberemu baganda baabwe ab'Ebika bya Yisirayeli ebirala. Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato, n'amagana gammwe (mmanyi nga mulina amagana mangi), bisigale mu bibuga byammwe, bye nabawa. Muyambe baganda bammwe, okutuusa lwe balyefuga ensi, Mukama gy'abawa emitala wa Yorudaani, era okutuusa nabo Mukama lw'alibawa okutebenkera nga mmwe. Olwo mulikomawo, ne mudda, buli muntu ku butaka bwe, bwe nabawa.’ “Ne ndagira Yoswa mu kiseera ekyo, nti: ‘Olabidde ddala n'amaaso go ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku bakabaka abo ababiri. Bw'atyo Mukama bw'ajja okukola ku buli bwakabaka bwe mugenda okulumba. Temubatyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye ajja okubalwanirira mmwe.’ “Ne neegayirira Mukama mu kiseera ekyo nga ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama Katonda nze omuweereza wo ondazeeko ntandikwa butandikwa ey'ebikulu era eby'amaanyi by'ogenda okukola. Teri Katonda mulala mu ggulu ne mu nsi ayinza okukola eby'amaanyi by'okoze. Nkusaba onzikirize nsomoke, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yorudaani, ensi eyo ennungi ey'ensozi, ne Lebanooni.’ “Naye Mukama n'ansunguwalira olw'okubeera mmwe, n'atampuliriza. N'aŋŋamba nti: ‘Ekyo kirekere awo. Toddayo kwogera nange ku kigambo ekyo. Yambuka ku ntikko y'Olusozi Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba ne mu bukiikakkono, ebuvanjuba, ne mu bukiikaddyo, ensi eyo ogirengere bulengezi, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yorudaani. Naye kuutira Yoswa era omugumye, abe mumalirivu, kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano okwefuga ensi eyo gy'ogenda okulengera.’ “Awo ne tusigala mu kiwonvu ekitunuulidde Beti Pewori. “Kale kaakano mmwe Abayisirayeli muwulire amateeka n'ebiragiro bye mbayigiriza okutuukirizanga, mulyoke mube balamu, era muyingire mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy'abawa, mugyefuge. Temuuyongerenga ku kye mbalagira era temuukikendeezengako. Mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbawa. Mmwe mwennyini mwalaba Mukama Katonda wammwe bye yakolera e Pewori, ebikwata ku Baali. Yazikiriza bonna mu mmwe abaasinzizaayo Baali. Naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu ne leero. “Nzuuno mbayigiriza amateeka n'ebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira. Mubikwatenga nga muli mu nsi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga. Mubikuumenga era mubituukirizenga, kubanga ekyo kye kinaalaganga abantu ab'amawanga amalala, bwe mulina amagezi n'okutegeera. Bwe banaawuliranga amateeka ago gonna, banaagambanga nti: ‘Ddala eggwanga lino ekkulu, lya bantu abagezi era abategeevu.’ “Kale ggwanga ki eddala ekkulu, eririna Katonda aliri okumpi bw'atyo, nga Mukama Katonda waffe bw'ali okumpi bwe tumukoowoola? Era ggwanga ki eddala ekkulu eririna amateeka n'ebiragiro eby'obwenkanya ng'amateeka gano gonna ge mbateerawo olwaleero? Wabula mwegendereze era mwekuume, muleme kwerabira mu bulamu bwammwe bwonna ebyo mmwe mwennyini bye mwalaba. Mutegeeze abaana bammwe ne bazzukulu bammwe olunaku lwe mwayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ku lusozi Horebu, lwe yaŋŋamba nti: ‘Nkuŋŋaanyiza abantu. Njagala bawulire bye mbagamba, bayige okuntyanga ennaku zonna ez'obulamu bwabwe ku nsi, era ekyo bakiyigirizenga n'abaana baabwe.’ “Mutegeezanga abaana bammwe nga bwe mwasembera ne muyimirira wansi w'olusozi olwali lubikkiddwa ebire ebikwafu, eby'omukka omuddugavu, ne lwaka omuliro, ne gutumbiira mu ggulu. Mubategeezenga nga Mukama bwe yayogera nammwe ng'asinziira mu muliro, ne muwulira ddoboozi lyokka ng'ayogera, kyokka ne mutalaba nga bw'afaanana n'akatono. Yabategeeza endagaano ye, gye yabalagira okutuukiriza, bye biragiro ekkumi, n'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja. Mukama n'andagira mu biseera ebyo okubayigiriza amateeka n'ebiragiro, mubituukirizenga mu nsi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga. “Kale mwegendereze nnyo. Nga bwe mutaalaba Mukama bw'afaanana ku lunaku lwe yayogera nammwe ku Lusozi Horebu ng'asinziira mu muliro wakati, mwekuume muleme kwonoona nga mwekolera ekifaananyi ekyole eky'engeri yonna ey'ekintu ekisajja oba ekikazi, eky'ensolo yonna ku nsi, eky'ekinyonyi eky'ebiwaawaatiro ekibuuka mu bbanga oba eky'ekintu kyonna ekyewalula ku ttaka, wadde eky'ekyennyanja ekibeera wansi mu mazzi. “Era mulemenga kukemebwa ne musinza era ne muweereza bye mulaba ku ggulu: enjuba, n'omwezi n'emmunyeenye. Ebyo byonna eby'oku ggulu, Mukama Katonda wammwe yabiteerawo abantu bonna abali ku nsi. Naye mmwe Mukama yabakwatako, n'abaggya mu kabiga ak'ekyuma, ye Misiri, abafuulire ddala abantu be nga bwe muli kaakano. Era Mukama yansunguwalira ku lwammwe, n'alayira nti nze sirisomoka Mugga Yorudaani era siriyingira mu nsi eyo ennungi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa mmwe okuba obutaka bwammwe. Nze nja kufiira mu nsi eno. Siri wa kusomoka Mugga Yorudaani. Naye mmwe mujja kusomoka, mwefuge ensi eyo ennungi. Mwekuume, mulemenga okwerabira endagaano Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe, ne mwekolera ekifaananyi eky'engeri yonna, Mukama Katonda wammwe kye yabagaana, kubanga Mukama Katonda wammwe ali ng'omuliro ogwaka, tavuganyizibwa. “Ne bwe muliba nga mumaze ebbanga ggwanvu mu nsi eyo, nga muzadde abaana, era nga mulina n'abazzukulu, temugezanga ne mwonoona nga mwekolera ekifaananyi eky'engeri yonna. Ekyo kibi mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era kirimusunguwaza. Nkoowoola eggulu n'ensi okubalumiriza olwaleero nti mulizikirira mangu ne muggweerawo ddala mu nsi gye munaatera okuyingiramu okwefuga, nga musomose Omugga Yorudaani. Temuligibeeramu bbanga ggwanvu, naye mulizikirira ne muggweerawo ddala. Mukama alibasaasaanya mu mawanga amalala, abatono ku mmwe gye balisigala nga balamu. Eyo gye muliweerereza balubaale abakolebwa abantu mu miti ne mu mayinja, balubaale abatalaba wadde okuwulira, era abatalya wadde okuwunyiriza. Naye nga muli eyo, munaanoonyanga Mukama Katonda wammwe. Era bwe munaamunoonyanga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, munaamuzuulanga. Bwe munaabeeranga mu buyinike, era ng'ebyo byonna bibajjidde, ku nkomerero munaakomangawo eri Mukama Katonda wammwe, ne mugondera by'abagamba, kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa. Taabaabulirenga wadde okubazikiriza, era teyeerabirenga ndagaano gye yakola ne bajjajjammwe. “Kale mwetegereze ebyaliwo mu mirembe egy'edda, okuviira ddala emabega, Katonda bukya atonda bantu ku nsi. Mwetegereze ensi yonna. Ekintu ekikulu nga kino kyali kibaddewo, era waliwo eyali akiwuliddeko? Waliwo abantu abaali bawulidde Katonda ng'ayogera, ng'asinziira mu muliro, nga mmwe bwe mwawulira, ne basigala nga balamu? Oba waliwo lubaale eyali agezezzaako okugenda okwetwalira abantu b'eggwanga erimu ng'abaggya wakati mu ggwanga eddala, ng'akozesa ebigezo, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'olutalo, n'obuyinza obungi n'amaanyi, n'eby'entiisa ennene, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakolera mmwe e Misiri nga mulaba? Ebyo Mukama yabibalaga mmwe, mulyoke mumanye nti Ye, ye Katonda yekka, tewali mulala. Mmwe yabawuliza eddoboozi lye ng'asinziira mu ggulu, alyoke abayigirize. Ne ku nsi yabalaga omuliro gwe ogw'amaanyi, ne muwulira bye yayogerera wakati mu gwo. Olw'okwagala bajjajjammwe, yabalondamu mmwe bazzukulu baabwe, era mu buyinza bwe obungi, Ye yennyini n'abaggya mu Misiri. Era bwe mwali nga munaatera okutuuka, ab'amawanga agasinga eryammwe obukulu n'amaanyi, yabagoba mu nsi yaabwe, ayingizeemu mmwe, era agibawe okuba obutaka bwammwe, nga bw'eri kaakano. Kale mumanye olwaleero era mukikuume mu mitima gyammwe, nga Mukama ye Katonda mu ggulu ne mu nsi. Tewali mulala. Mukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'abaana bammwe abaliddawo, era muwangaalire mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa ebe yammwe ennaku zonna.” Awo Musa n'ayawula ebibuga bisatu ebuvanjuba bwa Yorudaani, omuntu mw'ayinza okuddukira n'awona, bw'aba ng'asse munne mu butanwa, ng'abadde tamulinaako bulabe; nga bw'addukira mu kimu ku bibuga ebyo, awonya obulamu bwe. Waaliwo Bezeri eky'omu lusenyi mu ddungu, ku lw'ab'omu Kika kya Rewubeeni. Waaliwo Ramoti mu Gileyaadi ku lw'ab'omu Kika kya Gaadi. Waaliwo ne Golani mu Basani, ku lw'ab'omu Kika kya Manasse. Gano ge mateeka, Musa ge yateerawo Abayisirayeli. Bino bye bibuuliriro n'amateeka n'ebiragiro, Musa bye yategeeza Abayisirayeli bwe baava mu Misiri. Yabibaweera mu kiwonvu ekitunuulidde Beti Pewori, ebuvanjuba bwa Yorudaani, mu nsi eyali eya Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni, Musa n'Abayisirayeli gwe baawangula nga bavudde mu Misiri. Beefuga ensi ye, n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani kabaka omulala ow'Abaamori, era eyabeeranga ebuvanjuba bwa Yorudaani. Ekitundu kino, kiva ku Kibuga Aroweri, ekiri ku mabbali ku njegoyego z'Ekiwonvu Arunoni, okutuuka ku Lusozi Siyooni, olwo ye Herumooni. Era kitwaliramu ekitundu kyonna eky'ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani, okutuuka ku Nnyanja y'Omunnyo, wansi w'obutunnumba bw'Olusozi Pisuga. Awo Musa n'ayita Abayisirayeli bonna, n'abagamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, muwulire amateeka n'ebiragiro bye mbategeeza olwaleero. Mubiyige era mwegendereze okubituukirizanga. Mukama Katonda waffe yakola naffe endagaano ku Lusozi Horebu. Endagaano eyo teyagikola na bajjajjaffe bokka, wabula yagikola naffe ffenna abali wano, kati abalamu. Eyo ku Lusozi, Mukama yayogera nammwe nga mulabagana maaso na maaso, ng'asinziira mu muliro wakati. Nze nayimirira wakati wammwe ne Mukama mu kiseera ekyo, okubategeeza Mukama bye yali abagamba, kubanga mwali mutidde omuliro, ne mutayambuka ku lusozi. “Mukama n'agamba nti: ‘Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwangamu obuddu. “ ‘Temuubenga na Katonda mulala okuggyako Nze. “ ‘Temwekolerenga kifaananyi kya kintu na kimu eky'omu ggulu, oba eky'oku nsi, oba eky'omu mazzi wansi mu ttaka. Temuuvuunamirenga bifaananyi ebyo, era temuubisinzenga, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, sivuganyizibwa. Mbonereza abazzukulu bannakabirye ne bannakasatwe olw'ebibi bya bajjajjaabwe abankyawa. Naye nsaasira abantu enkumi n'enkumi abanjagala, era abakuuma ebiragiro byange. “ ‘Temuulayirirenga bwereere linnya lyange, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, ndibonereza buli alayirira obwereere erinnya lyange. “ ‘Mukuumenga olunaku olw'okuwummula nga lwange, nga Nze Mukama Katonda wammwe bwe nabalagira. Mulina ennaku mukaaga okukolerangamu emirimu gyammwe gyonna. Naye olunaku olw'omusanvu lwa kuwummula. Luweereddwayo nga lwange, Nze Mukama Katonda wammwe. Temuulukolerengako mulimu na gumu, mmwe mwennyini wadde batabani bammwe ne bawala bammwe, wadde abaddu bammwe, wadde abazaana bammwe, ente zammwe, endogoyi zammwe n'ebisolo byammwe ebirala, wadde abagwira abali awaka wammwe. Abaddu bammwe n'abazaana bammwe nabo bawummulenga nga mmwe. Mujjukirenga nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, nze Mukama Katonda wammwe ne mbaggyayo, nga nkozesa obuyinza obungi n'amaanyi. Kyenva mbalagira okukuumanga olunaku olw'Okuwummula. “ ‘Bakitammwe ne bannyammwe mubassengamu ekitiibwa, nga Nze Mukama Katonda wammwe bwe mbalagira, mulyoke muwangaale era mube bulungi mu nsi gye mbawa. “ ‘Temuttenga bantu. “ ‘Era temuuyendenga. “ ‘Era temubbenga. “ ‘Era temuuwaayirizenga bannammwe. “ ‘Era temuusigulenga baka bannammwe. Temuuyaayaanirenga nnyumba za bantu balala, newaakubadde ennimiro zaabwe, oba abaddu baabwe, oba abazaana baabwe, newaakubadde ente zaabwe, oba endogoyi zaabwe, wadde ekintu ekirala kyonna eky'omuntu omulala.’ “Ebyo bye biragiro Mukama bye yabawa mwenna nga mukuŋŋaanidde ku lusozi. Yabibagamba mu ddoboozi ery'omwanguka ng'asinziira mu muliro wakati ne mu kire, mu kizikiza ekikutte, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja, n'abimpa. “Kale bwe mwawulira eddoboozi eriva mu kizikiza, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera mmwe n'abakulembeze bammwe, n'abakulu b'ebika byammwe bonna, ne mugamba nti: ‘Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe. Tuwulidde eddoboozi lye eriva mu muliro wakati. Olwaleero tulabye nga Katonda ayogera n'omuntu, omuntu n'asigala nga mulamu. Naye kaakano tufiira ki? Omuliro guno omungi gujja kutusaanyaawo! Bwe tunaddamu okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe, tujja kufa. Ani mu bantu bonna, eyali awulidde eddoboozi lya Katonda Nnannyinibulamu, ng'ayogerera mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, omuntu oyo n'asigala nga mulamu? Genda, ggwe oba osembera okumpi, owulire Mukama Katonda waffe by'anaagamba, okomewo otubuulire byonna by'anaaba akugambye. Tujja kubiwulira tubituukirize.’ “Mukama n'awulira ebigambo bye mwayogera nange, n'aŋŋamba nti: ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye boogedde birungi. Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, ne bakuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezzadde lyabwe bandibaddenga bulungi ennaku zonna! Genda obagambe baddeyo mu weema zaabwe. Naye ggwe okomewo wano we ndi, nkutegeeze amateeka gonna n'ebiragiro n'ebibuuliriro by'onoobayigiriza, babituukirizenga mu nsi gye mbawa okugyefuga.’ “Kale mwegenderezenga okukola nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira, awatali kuwunjawunja kudda ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. Mukolerenga ku ebyo byonna Mukama Katonda wammwe bye yabalagira, mulyoke mubenga bulungi, era muwangaalire mu nsi, gye mulyefuga. “Kale gano ge mateeka n'ebiragiro n'ebibuuliriro Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza. Mubituukirizenga mu nsi gye munaatera okuyingiramu okugyefuga, nga musomose Omugga Yorudaani. Mmwe n'abaana bammwe era ne bazzukulu bammwe, mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa obulamu bwammwe bwonna. Mutuukirizenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye, bye mbawa, mulyoke muwangaale nnyo. Kale Abayisirayeli muwulire, mwegendereze okubituukirizanga, mulyoke mubeerenga bulungi, mweyongere nnyo obungi, mubeerenga mu nsi engimu era engagga, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabasuubiza mmwe. “Muwulire mmwe Abayisirayeli: Mukama, ye Katonda waffe, Mukama yekka. Mwagalenga Mukama, Katonda wammwe, n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, n'amaanyi gammwe gonna. Bino bye mbalagira olwaleero bibeerenga mu mitima gwammwe. Mujjukirenga okubiyigiriza abaana bammwe, mubyogerengako nga muli awaka, era nga mutambula mu ŋŋendo, nga mugalamiddeko, era nga mugolokose. Mubisibenga ku mikono gyamwe, era mubyetimbenga mu byenyi byammwe ng'akabonero akabibajjukiza. Mubiwandiikenga ku myango ne ku nzigi z'ennyumba zammwe. “Mukama Katonda wammwe bw'alibatuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, alibawa mmwe ebibuga ebinene era ebirungi bye mutaazimba, n'amayumba agajjudde ebirungi bye mutaateekamu. Alibawa enzizi ensime, ze mutaasima, n'ennimiro z'emizabbibu n'ez'emizayiti, gye mutaasimba. Mulirya ne mukkuta. Kale mwegendereze muleme kwerabira Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu. Mussengamu ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, mumusinzenga, era erinnya lye, lye muba mulayiranga. Temuusinzenga lubaale n'omu ku balubaale b'abantu ababeetoolodde. Bwe mulisinza balubaale, obusungu bwa Mukama bulibatumbukirako mmwe ng'omuliro, ne bubasaanyaawo, kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ali nammwe, wa buggya, tavuganyizibwa. “Temuukemenga Mukama Katonda wammwe nga bwe mwamukema e Masa. Munyiikirenga okukuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, n'ebyo bye yabakuutira, n'amateeka ge, ge yabateekera. Mukolenga ebyo Mukama by'ayita ebituufu era ebirungi, lwe mulibeera obulungi, ne muyingira era ne mwefuga ensi ennungi, Mukama gye yalayirira bajjajjammwe, abalabe bammwe bonna be musanzeemu ne mubagobamu, nga Mukama bwe yasuubiza. “Gye bujja, abaana bammwe balibabuuza mmwe nti: ‘Amateeka n'ebiragiro n'ebibuuliriro Mukama Katonda waffe bye yabateerawo, bitegeeza ki?’ Abaana bammwe abo bamubaddangamu nti: ‘Twali baddu ba kabaka w'e Misiri, Mukama n'atuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi. Twerabirako n'amaaso gaffe ebyewuunyo n'ebyamagero eby'amaanyi era eby'entiisa Mukama bye yakola ku Misiri ne ku kabaka waayo, ne ku b'ennyumba ya kabaka oyo bonna. Ffe n'atuggyayo, n'atuleeta wano, n'atuwa ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe. Mukama Katonda waffe n'atulagira okutuukirizanga amateeka ago gonna, n'okumussangamu ekitiibwa, tulyoke tubeerenga bulungi bulijjo, era atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano. Kye tusaanidde okukola, kwe kwegendereza tutuukirizenga byonna Mukama Katonda waffe bye yatulagira.’ “Mukama Katonda wammwe alibayingiza mu nsi gye mugenda okwefuga. Bwe muliba mutuuka, aligobamu amawanga mangi ag'Abahiiti, n'Abagirugaasi, n'Abaamori, n'Abakanaani, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi, amawanga musanvu amanene era ag'amaanyi okubasinga mmwe. Mukama Katonda wammwe bw'aliteeka abantu abo mu mikono gyammwe ne mubawangula, mubasaanyizangawo ddala. Temukolanga nabo ndagaano n'emu, era temubakwatirwanga kisa. Temuufumbiriganwenga nabo. Bawala bammwe temuubawenga batabani baabwe kubawasa, era ne bawala baabwe temuubawasizenga batabani bammwe, kubanga bwe mulikikola, ab'amawanga ago balikyusa abaana bammwe ne babaggya ku Mukama, ne basinza balubaale, Mukama n'abasunguwalira mmwe, era n'abazikiriza amangwago. Naye mulibayisa bwe muti: mulimenyaamenya alutaari zaabwe, muliyasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, n'ebifaananyi byabwe ebyole, ne mu byokya omuliro, kubanga muli ggwanga lya Mukama Katonda wammwe. Yabalondamu okuba eggwanga lye eryenjawulo mu mawanga gonna agali ku nsi. “Mukama yabaagala mmwe, era yabalondamu, si lwa kuba nga mwali bangi okusinga ab'amawanga amalala, kubanga mmwe mwali eggwanga erisingayo obutono mu mawanga gonna. Naye Mukama yabaagala bwagazi, era yayagala okukuuma ekirayiro kye yalayirira bajjajjammwe, kyeyava akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi okubanunula, n'abaggya mu mikono gya Kabaka w'e Misiri, eyabafuganga obuddu. N'olwekyo mumanye nga Mukama Katonda wammwe, ye Katonda yekka era nga mwesigwa. Akuuma endagaano ye, era akwatirwa ekisa amazadde olukumi ag'abo abamwagala era abakuuma ebiragiro bye. Naye abamukyawa alibeesasuza ng'abazikiriza. Talironzalonza kubonereza buli muntu amukyawa. Kale mutuukirizenga amateeka n'ebiragiro n'ebibuuliriro bye mbawa olwaleero. “Bwe munassangayo omwoyo ku biragiro bino ne mubikwata era ne mubituukiriza, Mukama Katonda wammwe anaakuumanga endagaano gye yakola nammwe, era anaabakwatirwanga ekisa nga bwe yalayirira bajjajjammwe. Anaabaagalanga mmwe, n'abawa omukisa, ne mweyongera okwala. Anaawanga abaana bammwe omukisa. Anaagimusanga ettaka lyammwe, ne mufuna omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti. Anaayazanga ente zammwe n'amagana gammwe ag'embuzi n'endiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe. Muliweebwa omukisa okusinga amawanga amalala gonna. Mu mmwe temuubenga musajja oba mukazi mugumba, wadde ekisolo ekitazaala mu magana gammwe. Mukama anaaziyizanga buli bulwadde okubakwata. Era taabalwazenga ndwadde mbi ez'e Misiri ze mumanyi, naye anaazirwazanga abo bonna ababakyawa. Muzikirizenga ab'amawanga gonna, Mukama Katonda wammwe g'anaateekanga mu mikono gyammwe. Temuubakwatirwenga kisa. Temuusinzenga balubaale baabwe, kubanga ekyo mmwe kiribafuukira omutego. “Bwe muneebuuzaganyanga nti: ‘Ab'amawanga gano nga batusinga obungi! Tuyinza tutya okubagobamu?’ Temubatyanga. Mujjukire Mukama Katonda wammwe kye yakola ku kabaka w'e Misiri ne ku Misiri yonna. Mujjukire ebigezo eby'amaanyi bye mwalabako n'amaaso gammwe, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'obuyinza obungi n'amaanyi, Mukama Katonda wammwe bye yakozesa okubanunulayo mmwe. Bw'atyo Mukama Katonda wammwe bw'alikola ne ku b'amawanga gonna ge mutya. Era Mukama Katonda wammwe alisindika ennumba mu bo, okutuusa lw'alizikiriza abo abaliba basigaddewo nga babeekwese mmwe. Temutyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe ali nammwe, ate nga mukulu era wa ntiisa. Ab'amawanga ago anaabagobangamu mpola mpola nga mutuuka mu nsi eyo. Temuliyinza kubamalawo mulundi gumu, ensolo ez'omu ttale zireme kweyongera bungi na kubayitirirako. Naye Mukama Katonda wammwe aliwaayo abalabe bammwe mu mikono gyammwe era bo alibakuba entiisa ey'amaanyi, okutuusa lwe balizikirizibwa. Aliwaayo bakabaka baabwe mu mikono gyammwe. Mulibazikiriza, ne beerabirwa ku nsi. Tewaliba muntu n'omu ayinza kubaziyiza mmwe. Mulibasaanyaawo. Ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, mubyokyanga omuliro. Temuululunkanirenga ffeeza wadde zaabu abiriko, era temuumutwalenga, sikulwa ng'abafuukira omutego, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala. Temuuleetenga kya muzizo na kimu mu mayumba gammwe, nammwe muleme kukolimirwa nga kyo. Mukikyayiranga ddala era mukitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa. “Ebiragiro byonna bye mbawa olwaleero musseeyo omwoyo okubituukirizanga, mulyoke mubenga abalamu, mweyongere okwala, mwefuge ensi Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe. Era mujjukire nga Mukama Katonda wammwe bwe yabakulembera mu lugendo lwonna, emyaka gino amakumi ana mu ddungu, alyoke abatoowaze era abageze, amanye ekiri mu mitima gyammwe, oba nga munaakuumanga ebiragiro bye. Yabatoowaza n'abaleka okulumwa enjala, ate n'abagabula mannu, mmwe ne bajjajjammwe gye mwali mutamanyi, abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula aba mulamu na buli kigambo Mukama ky'ayogera. Mat 4:4; Luk 4:4; Yow 6:31,49,58; Beb 9:4; Kub 2:17 Emyaka gino amakumi ana, ebyambalo byammwe tebyabakaddiwako, n'ebigere byammwe tebyazimba. Era mukimanye mu mitima gyammwe nti ng'omuntu bw'akangavvula omwana we, ne Mukama Katonda wammwe bw'abakangavvula mmwe. Kale mukuumenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, mugobererenga ebyo by'alagira, era mumussengamu ekitiibwa, kubanga Mukama Katonda wammwe, abatwala mu nsi ennungi, erimu emigga n'enzizi n'ensulo z'amazzi agafubutuka mu biwonvu ne mu nsozi, ensi ebaza eŋŋaano ne bbaale, eddamu emizabbibu, n'emitiini n'emikomamawanga, era erimu omubisi gw'enjuki. Mu nsi eyo mulirya emmere n'etebaggwaako. Mu nsi eyo, temulibaako kye mujula. Enjazi zaayo zirimu ekyuma, ne mu nsozi zaayo muyinza okusimamu ekikomo. Munaalyanga ne mukkuta, ne mwebaza Mukama Katonda wammwe olw'ensi ennungi gye yabawa. “Mwekuumenga mulemenga okwerabira Mukama Katonda wammwe, era temulemanga kukuuma mateeka ge n'ebiragiro bye, n'ebibuuliriro bye, bye mbawa olwaleero. Bwe mulimala okufuna emmere ebamala, n'okuzimba amayumba amalungi n'okugasulamu, era nga mumaze okweza ente n'amagana ag'embuzi n'endiga, era nga ffeeza era ne zaabu wammwe, na byonna bye mulina nga bimaze okwala, temugezanga okwegulumiza mu mitima gyammwe, ne mwerabira Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu. Yabayisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota n'enjaba eby'obusagwa. Mu ddungu eryo ekkalu, omutali mazzi yabaggyira amazzi mu lwazi olugumu. Yabagabulira mu ddungu mannu, bajjajjammwe gye bataamanya, alyoke abatoowaze era abageze, n'oluvannyuma abawe ebirungi. Muleme kugamba mu mitima gyamwe nti: ‘Obuyinza bwaffe n'amaanyi gaffe bye bitufunyisizza obugagga.’ Naye mujjukirenga Mukama Katonda wammwe, kubanga ye abasobozesa okugaggawala, ng'atuukiriza na buli kati endagaano gye yalayirira bajjajjammwe nti anaagikuumanga. Bwe mulyerabira Mukama Katonda wammwe ne mugoberera balubaale, ne mubaweereza era ne mubasinza, mbakakasa olwaleero nti temulirema kuzikirira. Bwe muligaana okuwulira Mukama Katonda wammwe, mulizikirira ng'ab'amawanga ago Mukama g'agenda okuzikiriza, mmwe nga mutuuka. “Muwulire mmwe Abayisirayeli: olwaleero mugenda okusomoka Omugga Yorudaani, muyingire era mwefuge ensi y'amawanga agasinga eggwanga lyammwe obunene n'amaanyi. Ebibuga byago binene era byazimbibwako ebigo ebigulumivu okutuuka mu bire. Abantu baamu banene era bawanvu, bazzukulu ba Anaki abawagguufu, be mumanyi. Era mwawulirako nti tewali ayinza kwaŋŋanga Baanaki abo. Kale mumanye nti Katonda wammwe ye anaabakulemberamu mmwe, ng'ali ng'omuliro ogwokya buli kimu. Ye yennyini ajja kuwangula abantu abo, nga mmwe mutuuka, bwe mutyo mulyoke mubagobemu era mubazikirize mangu, nga Mukama bwe yabagamba mmwe. “Mukama Katonda wammwe bw'alimala okugobamu abantu abo mu nsi eyo mmwe nga mutuuka, temugambanga mu mitima gyammwe nti: ‘Mukama atuleese mu nsi eno okugyefuga, lwa butuukirivu bwaffe.’ Wabula mmwe nga mutuuka, ajja kugobamu abantu b'amawanga ago, lwa bibi byabwe. Muyingira okwefuga ensi yaabwe, si lwa kuba nti muli batuukirivu, oba nti muli balungi mu mitima gyammwe. Naye olw'ebibi byabwe, Mukama Katonda wammwe kyava agobamu ab'amawanga ago. Era ayagala anyweze kye yalayirira bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo. Kale mumanye nti Mukama Katonda weewaawo abawa ensi eno ennungi mugyefuge, kyokka tagibawa lwa butuukirivu bwammwe, kubanga muli bantu ba mitima mikakanyavu. “Mujjukire era temwerabiranga bwe mwasunguwaliza Mukama Katonda wammwe mu ddungu. Okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mujeemera Mukama. Ne ku Lusozi Horebu mwanyiiza Mukama, n'abasunguwalira nnyo, n'ayagala okubazikiriza. Bwe nayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja ebyawandiikibwako endagaano Mukama gye yakola nammwe, nasigalayo emisana n'ekiro okumala ennaku amakumi ana nga sirya mmere, wadde okunywa amazzi. Mukama n'ampa ebipande bibiri eby'amayinja, ye yennyini bye yawandiikako n'omukono gwe, ebigambo byonna bye yayogera nammwe ng'asinziira mu muliro wakati, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako eyo ku lusozi. Kale ennaku ezo amakumi ana emisana n'ekiro, bwe zaayitawo, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, ebyawandiikibwako endagaano. “Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka ove wano, oserengete mangu, kubanga abantu bo be waggya e Misiri boonoonese ne bakola ekitasaana. Bakyuse mangu ne bava ku mpisa ze nabalagira okukwata. Balina bye basaanuusizza, ne beekoleramu ekifaananyi.’ “Mukama n'ayongera okuŋŋamba nti: ‘Ndabye ng'abantu b'eggwanga lino ba mitima mikakanyavu. Ndeka mbazikirize, beerabirirwe ddala ku nsi. Ndisibusa mu ggwe eggwanga eddene era ery'amaanyi okusinga bo.’ “Awo ne nkyuka ne nserengeta okuva ku lusozi nga nkutte mu mikono gyange gyombi ebipande ebibiri eby'amayinja okwawandiikibwa endagaano. Olusozi lwali lwaka omuliro. Ne ntunula, ne ndaba nga mwali mumaze okukyama ne muva mangu ku mpisa Mukama ze yabalagira okukwata. Mwali mukoze ekibi ne munyiiza Mukama Katonda wammwe, nga mulina bye musaanuusizza, ne mwekoleramu ekifaananyi ky'ennyana. Ne mpanika ebipande byombi, ne mbikuba wansi, ne mbyasa nga mulaba. Ne nvuunama mu maaso ga Mukama, nga bwe nakola mu kusooka. Ne mmala ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro nga sirya mmere wadde okunywa amazzi, kubanga mwali mukoze ekibi ne munyiiza Mukama. Natya olw'obusungu n'ekiruyi Mukama bye yali abasibidde, n'ayagala okubazikiriza. Kyokka Mukama n'ampuliriza ne ku mulundi ogwo. Era Mukama n'asunguwalira nnyo Arooni, n'ayagala okumuzikiriza. Era ne nsabira ne Arooni mu kiseera ekyo. Ne nkwata ekintu ekyo eky'ekibi kyammwe, ye nnyana gye mwali mukoze, ne ngisuula mu muliro. Ne ngikoonakoona, ne ngisekulasekula nnyo okutuusa lwe yafuuka ng'enfuufu. Ne njiwa enfuufu yaayo eyo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi. “Era e Tabera n'e Massa n'e Kiburooti Hattaava, nayo mwanyiirizaayo Mukama. Era Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesi Baruneya ng'agamba nti: ‘Mwambuke mwefuge ensi gye mbawadde’, mwajeemera ekiragiro kye. Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, era temwawuliriza ky'agamba. Muzze mujeemera Mukama okuva ku lunaku lwe nabamanya. “Awo ne nvuunama mu maaso ga Mukama okumala ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, kubanga Mukama yali agambye nti agenda kubazikiriza. Ne neegayirira Mukama, ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo, ababo ku bubwo, be wanunula n'obuyinza bwo, be waggya mu Misiri n'amaanyi go. Jjukira abaweereza bo Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo. Totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano, newaakubadde ebibi byabwe, wadde okwonoona kwabwe, sikulwa ng'ab'omu nsi gye watuggyamu bagamba nti: Mukama teyasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza. Era yabakyawa, kyeyava abatwala mu ddungu okubatta. Naye bano be bantu bo, ababo ku bubwo, be waggyayo n'obuyinza bwo obungi era n'amaanyi.’ “Mu kiseera ekyo, Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Bajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, era okole essanduuko ey'embaawo, oyambuke gye ndi ku lusozi. Nja kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande biri eby'olubereberye bye wayasa, olwo obiteeke mu ssanduuko.’ “Awo ne nkola essanduuko ey'omuti ogwa kasiya, ne mbajja n'ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, ne nnyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange. Mukama n'awandiika ku bipande ebyo ebigambo ebiri nga biri ebyasooka: Ebiragiro Ekkumi, Mukama bye yabawa mmwe ng'asinziira mu muliro wakati, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama n'ampa ebipande ebyo. Ne nkyuka, ne nserengeta okuva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nakola, era biri omwo nga Mukama bwe yandagira.” (Abayisirayeli ne batambula okuva ku nzizi z'Abayaakani ne batuuka e Mosera. Arooni n'afiira eyo, era eyo gye yaziikibwa. Mutabani we Eleyazaari n'amusikira mu mulimu gw'obwakabona. Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda. Ne bava e Gudugoda ne batuuka e Yotubata, ensi erimu emigga gy'amazzi. Mu kiseera ekyo Mukama n'ayawula ab'Ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso ge okumuweereza, n'okuwanga abantu omukisa mu linnya lye. Egyo gye mirimu gyabwe n'okutuusa kati. Abaleevi kyebaava batafuna mugabo gwa ttaka ery'ensikirano nga baganda baabwe. Ku bya Mukama kwe bagabana, nga Mukama Katonda wammwe, bo bwe yabagamba.) “Ne mbeera ku lusozi okumala ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, nga bwe nakola ku mulundi ogwasooka. Ne ku mulundi ogwo, Mukama n'awulira kye mmusaba, n'akkiriza obutabazikiriza mmwe. Awo n'aŋŋamba nti: ‘Situka oyongere okutambula olugendo, okulembere abantu, bagende beefuge ensi gye nalayirira bajjajjaabwe okubawa.’ “Kale kaakano Abayisirayeli, Mukama Katonda wammwe ky'abaagaza, kye kino: Mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa. Mukwatenga empisa ennungi z'abalagira. Mumwagalenga era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, era mukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero mulyoke mube bulungi. Eggulu lyonna gye likoma okutumbiira, lya Mukama Katonda wammwe, era n'ensi yiye, n'ebigirimu byonna. Naye Mukama yalumirwa nnyo bajjajjammwe, n'abaagala era n'okutuusa kati, kyeyava yeeroboza mmwe bazzukulu baabwe, mu b'amawanga amalala gonna. Kale mubeerenga bawulize eri Mukama, mulekere awo okuba abakakanyavu, kubanga Mukama Katonda wammwe mukulu okusinga balubaale bonna. Ye Mukama w'abafuzi, ow'amaanyi era ow'entiisa, atasaliriza, era atalya nguzi. Bag 2:6; Beef 6:9 Asala mu bwenkanya ensonga za bamulekwa ne bannamwandu. Alumirwa abagwira abali mu mmwe, n'abawa ebyokulya n'ebyokwambala. Kale mwagalenga abagwira abo, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. Mussengamu ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, era Ye gwe mubanga muweereza. Mumunywererengako, era mu linnya lye, mwe mubanga mulayirira. Mumutenderezenga. Ye Katonda wammwe. Mwerabirako n'amaaso gammwe ebikulu era eby'entiisa bye yabakolera. Bajjajjammwe baagenda e Misiri nga bali abantu nsanvu bokka, naye kaakano Mukama Katonda wammwe, mmwe abafudde bangi ng'emmunyeenye eziri ku ggulu. “Kale mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mutuukirizenga amateeka ge n'ebiragiro bye n'ebibuuliriro bye ennaku zonna. Mumanye olwaleero nti soogera na baana bammwe abatannamanya, era abatannalaba nga Mukama Katonda wammwe bw'akangavvula. Mmwe mwalaba obukulu bwe, n'obuyinza bwe obungi, n'amaanyi ge, n'ebyewuunyo era n'ebikolwa, bye yakolera e Misiri ku kabaka waayo, ne ku Misiri yonna. Mwalaba nga Mukama bwe yasaanyizaawo ddala n'okutuusa kati eggye ly'Abamisiri, n'embalaasi zaabwe, n'amagaali gaabwe, ng'abakuluggusizaako amazzi g'Ennyanja Emmyufu, bwe baali nga babawondera mmwe. Mumanyi bye yabakolera mmwe mu ddungu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino. Era mujjukira kye yakola ku Datani ne Abiraamu batabani ba Eliyaabu ow'omu Kika kya Rewubeeni, ettaka bwe lyayasama ng'Abayisirayeli bonna balaba, ne libamira n'ab'omu maka gaabwe n'eweema zaabwe, na buli kiramu kye baali nakyo. Ddala mwalabanga ebintu byonna ebikulu Mukama bye yakola. “Kale mutuukirizenga ebiragiro byonna bye mbawa olwaleero, mulyoke mube n'amaanyi, musomoke omugga, mwefuge ensi gye munaatera okuyingiramu, era mulyoke muwangaalire mu nsi eyo ennungi era engimu, Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe, okugibawa bo ne zzadde lyabwe. Ensi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga, teri ng'ensi y'e Misiri gye mwavaamu, mwe mwasiganga ensigo ne mukola n'amaanyi okuzifukirira, ng'ennimiro y'enva. Naye ensi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga nga musomose Omugga Yorudaani, ye nsi ey'ensozi n'ebiwonvu, efukirirwa enkuba etonnyamu. Ensi eyo Mukama Katonda wammwe agyagala era agirabirira ennaku zonna, okuva omwaka lwe gutandika okutuusa lwe guggwaako. “Kale munyiikirenga okutuukiriza ebiragiro bye mbawa olwaleero. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna. Olwo anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo ebya ddumbi n'ebya ttoggo, musobolenga okukungula eŋŋaano yammwe n'okufuna omwenge gwammwe ogw'emizabbibu n'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti. Anaabawanga omuddo gw'ensolo zammwe ku ttale. Nammwe mwennyini munaalyanga ne mukkuta. Mwekuume mulemenga okubuzibwabuzibwa ne muwaba ne muweerezanga balubaale era ne mubasinzanga, Mukama n'abasunguwalira mmwe, n'aziyiza enkuba okutonnya, ensi n'ekala n'etebaza bibala, ne muzikirira mangu, wadde nga muli mu nsi ennungi Mukama gy'abawa. “Kale mukuumenga ebigambo byange ebyo mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe. Mubisibenga ku mikono gyammwe, era mubyetimbenga mu byenyi byammwe ng'akabonero akabibajjukiza. Mubiyigirizenga abaana bammwe. Mubyogerengako nga muli awaka, era nga mutambula mu ŋŋendo, nga mugalamiddeko, era nga mugolokose. Mubiwandiikenga ku myango ne ku nzigi z'ennyumba zammwe. Olwo mmwe n'abaana bammwe muliwangaalira mu nsi, Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe. Muligibeeramu ebbanga lyonna eggulu lye lirimala nga liri waggulu w'ensi. “Munyiikirenga okukwata amateeka gano gonna ge mbateekera era mugatuukirizenga. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe. Mukolenga byonna by'abalagira era mumunywererengako. Olwo anaagobamu ab'amawanga ago gonna nga mutuuka, mmwe ne mwefuga ensi y'ab'amawanga agasinga eryammwe obunene n'amaanyi. Buli kifo kye munaalinnyangamu ekigere, kinaabeeranga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Ewufuraate mu buvanjuba, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba. Tewaliba muntu n'omu ayinza kubaziyiza mmwe, kubanga buli gye munaagendanga, Mukama Katonda wammwe anaaleeteranga abantu baayo okubassaamu ekitiibwa n'okubatya mmwe, nga bwe yabagamba. “Olwaleero mbawa mulondewo okuweebwa omukisa oba okukolimirwa. Munaaweebwanga omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbawa olwaleero, munaakolimirwanga bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva ku mpisa ze mbalagira leero, ne musinzanga balubaale be mwali mutamanyi. Kale Mukama Katonda wammwe bw'alibatuusa mu nsi gye mugenda okwefuga, mulirangirira omukisa nga musinziira ku Lusozi Gerizimu, ate ekikolimo nga musinziira ku Lusozi Ebali. Ensozi ezo zombi ziri mitala wa Mugga Yorudaani, mu nsi y'Abakanaani, ababeera mu kiwonvu kya Yorudaani okwolekera Gilugaali, mu mabbali g'emivule gya More. Munaatera okusomoka Omugga Yorudaani, okuyingira mwefuge ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa. Bwe muligyefuga ne mugibeeramu, mwegenderezanga okutuukiriza amateeka gonna n'ebiragiro bye mbateerawo olwaleero. “Gano ge mateeka n'ebiragiro bye muneegenderezanga okutuukiriza nga muli mu nsi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy'abawa mmwe okugyefuga, ennaku zonna ze mulimala nga muli balamu ku nsi. Temulemanga kuzikiriza bifo byonna, ab'amawanga ge mugenda okwefuga mwe basinziza balubaale baabwe: ku nsozi engulumivu, ku busozi, ne wansi w'emiti egy'amakoola. Mumenyanga alutaari zaabwe, ne mwasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja. Mwokyanga ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, era mutemaatemanga ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, ne bataddamu kusinzibwanga mu bifo ebyo. “Mmwe temuusinzenga Mukama Katonda wammwe ng'abantu abo bwe basinza balubaale baabwe. Mu bifo by'ebika byammwe byonna, Mukama Katonda wammwe alyerobozaamu ekifo kimu, abantu gye banaagendanga mu maaso ge okumusinza. Eyo gye munaatwalanga ebyo bye muwaayo ebyokebwa, n'ebitambiro byammwe, n'ebitundu eby'ekimu eky'ekkumi bye muwaayo, n'ebitone ebirala bye muwaayo, n'ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde, n'ente zammwe era n'endiga n'embuzi zammwe eziba zisoose okuzaalibwa. Eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe gye munaaliiranga, ne musanyuka olw'ebyo byonna bye munaabanga mukoze, mmwe n'ab'omu maka gammwe, Mukama Katonda wammwe n'abibaweeramu omukisa. “Temuukolenga ebyo byonna nga bye tukola wano kaakano. Buli muntu abadde akola ekyo ky'alowooza nti kye kituufu, kubanga temunnatuuka mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa, gye munaabeerangamu nga muli mu mirembe. Naye bwe munaasomoka Omugga Yorudaani, Mukama Katonda wammwe ajja kubawa ensi eyo mugyefuge. Anaabawonyanga abalabe bammwe ababeetoolodde, ne mubeera mu mirembe. Mukama Katonda wammwe alyeroboza ekifo eky'okumusinzizangamu. Eyo gye munaatwalanga ebyo byonna bye mbalagidde: ebyo bye muwaayo ebyokebwa, n'ebitambiro byammwe, n'ebitundu eby'ekimu eky'ekkumi bye muwaayo, n'ebitone ebirala bye muwaayo, n'ebyo bye mweyama okuwa Mukama. Munaasanyukiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe mugabana. Mwekuumenga muleme okuweerangayo mu buli kifo kye mulaba ebyo bye muwaayo ebyokebwa. Naye munaabiweerangayo mu kifo ekyo kyokka Mukama ky'alyeroboza, mu kitundu ky'ensi ey'ekimu ku bika byammwe. Eyo gye munaaweerangayo ebyo bye muwaayo ebyokebwa, era gye munaakoleranga ebyo byonna bye mbalagira. “Naye munaayinzanga okuttira ebisolo n'okuliira ennyama wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, era nga Mukama bw'anaabanga abawadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okugiryako, nga bwe balya ku nnyama y'empeewo ne ku y'enjaza. Kyokka temuulyenga ku musaayi. Munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi. Buli kye muwaayo eri Mukama, temuukiriirenga eyo gye mubeera, ka kibe ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yammwe, oba eky'omwenge gwammwe ogw'emizabbibu, oba eky'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti, newaakubadde ente zammwe n'endiga n'embuzi zammwe ezisooka okuzaalibwa, oba ebirabo bye mweyama okuwa Mukama, wadde bye muwaayo nga mweyagalidde, oba ebiweebwayo ebirala byonna. Naye mmwe ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, era n'Abaleevi ababeera nammwe, ebiweebwayo ebyo munaabiriiranga mu maaso ga Mukama, Katonda wammwe, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza. Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe olwa byonna bye munaabanga mukoze. Mwegenderezenga muleme okusuuliriranga Abaleevi, ebbanga lyonna lye mulimala nga muli balamu ku nsi. “Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo z'ensi yammwe nga bwe yabasuubiza, buli lwe munaagambanga nti: ‘Tujja kulya nnyama’, kubanga gye mwagala okulya, munaalyanga nnyama nga bwe mwegomba. Ekifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu bwe kinaababeeranga ewala ennyo, kale nga bwe mbalagidde, munattanga ku nte zammwe ne ku ndiga ne mbuzi zammwe Mukama z'abawadde, ne muliira gye mubeera, nga bwe munaabanga mwagadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu bonna banaayinzanga okulya ku nnyama eyo, nga bwe balya ku y'empeewo n'ey'enjaza. Naye mwegenderezanga ne mutalya ku musaayi, kubanga omusaayi bwe bulamu. Kale temuulyenga bulamu wamu n'ennyama. Omusaayi temuugulyenga. Munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi. Temuugulyenga, byonna biryoke bibagenderenga bulungi, mmwe n'ezzadde lyammwe eriribaddirira, kubanga munaabanga mukoze ekyo Mukama ky'alaba nga kye kituufu. Naye ebitukuvu bye mulina, n'ebyo bye mweyama okuwa Mukama, munaabikwatanga ne mubitwala mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza. Munaaweerangayo ku alutaari ya Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, ennyama wamu n'omusaayi. Era munaawangayo n'ebitambiro, ng'omusaayi gwabyo guyiibwa ku alutaari ya Mukama Katonda wammwe, yo ennyama ne mugirya. Muwulirize bulungi ebigambo bino byonna bye mbalagira, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'ezzadde lyammwe eriribaddirira emirembe gyonna, nga mukola ebyo Mukama Katonda wammwe by'alaba nga birungi era nga bituufu. “Mukama Katonda wammwe alizikiriza ab'amawanga ge munaatera okuyingiramu mugeefuge. Mulyefuga ensi yaabwe, ne mubeeranga omwo. Bwe balimala okuzikirizibwa nga mulaba, mwekuume mulemenga kukemebwa kugoberera mpisa zaabwe. Era mulemenga kwebuuza ebikwata ku balubaale baabwe, nga mugamba nti: ‘Ab'amawanga gano baasinzanga batya balubaale baabwe? Era naffe bwe tutyo bwe tunaasinzanga.’ “Temuusinzenga Mukama Katonda wammwe nga bo bwe baasinzanga balubaale baabwe, kubanga bwe baabanga basinza balubaale baabwe, baakolanga buli kya muzizo, Mukama ky'akyawa. Baayokyanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro ne babafuula ebitambiro eri balubaale baabwe. “Buli kye mbalagira, mufubenga okukituukiriza. Temuubengako kye mukyongerako, wadde kye mukikendeezaako. “Bwe wabangawo mu mmwe omulanzi oba omuvvuunuzi w'ebirooto, n'abasuubiza ekyewuunyo oba ekyamagero, ekyewuunyo ekyo oba ekyamagero ekyo ne bwe kituukiriranga, kyokka n'abagamba nti: ‘Tusinzenga balubaale, be mutasinzangako, era tubaweerezenga’, temuwulirizanga mulanzi oyo oba muvvuunuzi wa birooto oyo, kubanga Mukama Katonda wammwe aliba abageza bugeza, alabe oba nga mumwagala n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna. Mugobererenga Mukama Katonda wammwe, era gwe muba mussangamu ekitiibwa. Mumuwulirenga era mukuumenga ebiragiro bye. Mumusinzenga era mumunywererengako. Naye omulanzi oyo, oba omuvvuunuzi w'ebirooto oyo, attibwanga, kubanga abagamba okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu. Omuntu ng'oyo aba abawabya okubaggya mu mpisa, Mukama Katonda wammwe ze yabalagira okukwatanga, kyanaavanga attibwa ne mweggyako ekibi ekyo. “Ne muganda wo bwe muzaalibwa nnyammwe omu, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukyala wo gw'oyagala ennyo, oba mukwano gwo ennyo ayinza okukusendasenda mu kyama ng'agamba nti: ‘Tugende tusinze balubaale, ggwe ne bajjajjaabo be mutasinzangako.’ Omu ku abo ayinza okukusendasenda okusinzanga balubaale b'amawanga agabeetoolodde, agali awo okumpi n'agali ewala, ku njuyi zonna ez'ensi. Tokkirizenga by'akugamba, era toomuwulirizenga. Tomutunuulizanga kisa wadde okumusaasira, era toomuzibirenga, wabula omuttanga. Ggwe obeeranga omusaale okumukuba amayinja, n'abalala bonna ne balyoka bagamukuba okumutta. Onoomukubanga mayinja n'afa, kubanga agezezzaako okukusendasenda ove ku Mukama Katonda wo, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu. Kale Abayisirayeli bonna banaawuliranga ekibaddewo ne batya, ne wataba n'omu mu mmwe addayo kukola kibi kyenkanidde awo. “Bwe muwuliranga nga bagamba nti mu kimu ku bibuga, Mukama Katonda wammwe bye yabawa okubeeramu, mulimu abantu ab'eggwanga lyammwe abataliimu nsa, abasenzesenze abatuuze b'omu kibuga kyabwe okusinza balubaale be mutasinzangako, munekkaanyanga, ne munoonyereza, era ne mubuuliriza n'obwegendereza. Kale bwe kinaabanga ekituufu era ekikakafu nti eky'omuzizo ekyenkanidde awo kikoleddwa mu mmwe, temulemanga kutta batuuze ba mu kibuga ekyo bonna n'amagana gaabwe, n'ebikirimu byonna, ne mukizikiririza ddala. Ebintu byonna eby'abantu baamu, mubikuŋŋaanyizanga mu luguudo mu makkati g'ekibuga ekyo. Ekibuga n'ebintu byonna ebikirimu mubyokyanga, ne biba ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe, ekyokebwa nga kiramba. Ekibuga ekyo kisigalanga matongo ennaku zonna ne kitaddamu kuzimbibwa. Temwesigalizengawo kintu na kimu ku bikolimiddwa, olwo Mukama alyoke akomye obusungu bwe obungi. Alibakwatirwa ekisa, n'abasaasira n'abafuula bangi nga bwe yalayirira bajjajjammwe, kasita munaamuwuliranga, ne mukuuma ebiragiro bye byonna bye mbawa olwaleero, ne mukolanga ebyo Mukama Katonda wammwe by'alaba nti bye bituufu. “Mmwe muli bantu ba Mukama Katonda wammwe. Bwe mubanga mukungubagira abafu, temwesalengako misale era temuumwenga ku mitwe gyamwe mu ngeri ebafaananya ng'ab'ebiwalaata, ng'abantu abalala bwe bakola, kubanga mmwe muli ggwanga lya Mukama Katonda wammwe. Yabalondamu okuba eggwanga lye eryenjawulo mu mawanga amalala gonna agali ku nsi. “Temuulyenga kintu na kimu Mukama kye yalangirira okuba eky'omuzizo. Zino ze nsolo ze munaayinzanga okulya: ente, endiga n'embuzi, enjaza n'empeewo, enjobe n'ennangaazi, embulabuzi, entamu n'ensirabo, na buli nsolo erina ekinuulo ekyaseemu, era ezza obwenkulumu. Naye mu ezo ezizza obwenkulumu oba ezirina ebinuulo ebyaseemu, zino ze mutaalyenga: eŋŋamiya, akamyu, n'omusu. Ezo munaazibaliranga mu zitali nnongoofu, kubanga wadde zizza obwenkulumu, naye tezirina binuulo byaseemu. Era temuulyenga mbizzi. Nayo munaagibaliranga mu nsolo ezitali nnongoofu, kubanga wadde erina ebinuulo ebyaseemu, naye tezza bwenkulumu. Temuulyenga ku nnyama ya nsolo ezo, wadde okuzikoonako nga zifudde. “Mu byonna ebibeera mu mazzi, munaayinzanga okulya buli ekirina amaggwa n'amagamba. Naye buli ekitalina maggwa na magamba, temuukiryenga. Munaakibaliranga mu bitali birongoofu. “Munaayinzanga okulya ku nnyonyi zonna ennongoofu. Naye zino temuuziryengako: ennunda, empungu ne makwanzi; wonzi, eddiirawamu, ne kamunye, n'endala eziri ng'ezo; na buli ngeri ya nnamuŋŋoona, ne mmaaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo, n'endala eziri ng'ezo; n'akawuugulu akatono, n'ekkukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu, n'ekimbala, n'ensega, n'enkobyokkoobyo; ne kasida, ne ssekanyolya, n'endala ezimufaanana, n'ekkookootezi, n'ekinyira. “Ebitonde byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro mubibaliranga mu bitali birongoofu. Temuubiryenga. Munaayinzanga okulya ku bitonde byonna ebirongoofu ebirina ebiwaawaatiro. “Temuulyenga ku kintu na kimu ekifudde ku bwakyo. Munaayinzanga okukiwa abagwira ababeera mu nsi yammwe ne bakirya, oba munaayinzanga okukiguza abagwira abalala. Naye mmwe muli ggwanga, Mukama Katonda wammwe lye yafuula erirye. Temuufumbirenga mwana gwa nsolo mu mata ga nnyina waagwo. “Muneesoloozangako ekitundu kimu eky'ekkumi ku bibala bye mukungula mu nnimiro zammwe buli mwaka, era munaagendanga mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne muliira eyo mu maaso ge, ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yammwe, n'eky'omwenge gwammwe ogw'emizabbibu, n'eky'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti, n'ente, endiga n'embuzi zammwe ezisooka okuzaalibwa, bwe mutyo muyige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna. Naye olugendo bwe lunaabayitirirangako obuwanvu, ng'ekifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu kiri wala, ne mutasobola kutwalayo kitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebyo Mukama Katonda wammwe ky'abawaddemu omukisa, munaakitundanga ne mufunamu ensimbi, ne mutwala ezo, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza. Ensimbi ezo munaazigulangamu kye munaabanga mwagadde: ente, oba endiga, oba omwenge ogw'emizabbibu, oba omwenge omuka, oba ekintu ekirala kyonna kye munaabanga mwegombye okulya. Ne muliira eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, ne musanyukira wamu n'ab'omu maka gammwe. Abaleevi ababeera mu bibuga byammwe temuubasuulirirenga, kubanga bo tebalina mugabo gwa ttaka ery'ensikirano nga mmwe. “Ku buli nkomerero y'omwaka ogwokusatu, munaaleetanga ekitundu kimu eky'ekkumi kyonna eky'ebirime bye mukungudde omwaka ogwo, ne mukitereka mu bibuga byammwe. Kale Abaleevi abatalina mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe gwe mulina, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe, banajjanga ne bafuna ku mmere eyo, ne balya ne bakkuta, Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga mmwe omukisa mu byonna bye munaakolanga. “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, munaasonyiwanga abantu amabanja. Eno ye ngeri gye munaakikolangamu: buli anaabanga alina munne gw'abanja, anaamusonyiwanga kye yamuwola. Taakibanjenga munne oyo era muganda we, kubanga Mukama yennyini ye anaabanga alangiridde ekisonyiwo. Abagwira munaayinzanga okubabanja, naye buli kintu kyammwe ekiri mu baganda bammwe, munaakibalekeranga. “Tewaabenga mwavu mu mmwe, kubanga Mukama Katonda wammwe taalemenga kubawa mukisa mu nsi gy'abawa okwefuga, ebe obutaka bwammwe, kasita munaanyiikiranga okuwulira, ne mutuukirizanga ebiragiro bye bino byonna bye mbawa olwaleero. Ddala Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa nga bwe yabasuubiza. Munaawolanga amawanga mangi, naye mmwe, temwewolenga. Munaafuganga amawanga mangi, naye mmwe, tegaabafugenga. “Mu mmwe bwe munaabangamu omwavu mu kimu ku bibuga byammwe mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temuukakanyazenga mitima gyamwe, ne mugaana okuyamba muganda wammwe oyo omwavu, wabula mumukwatirwanga ekisa, ne mumuwola byonna by'anaabanga yeetaaga. Temuugaanenga kumuwola nga mwekwasa nti omwaka ogw'omusanvu ogw'okusonyiyiramu amabanja gunaatera okutuuka. Temukkirizenga ndowooza eyo embi kuyingira mu mitima gyammwe. Bwe munaagaananga okumuwola, n'amala akoowoola Mukama ng'abawawaabira, munaavuunaanibwanga ekibi ekyo. Temulemanga kumuweesa kwagala, nga n'omutima gwammwe teguliimu kwennyamira. Olwo Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga. Abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna. Kyenva mbalagira mmwe nti temulemanga kuyamba baganda bammwe abali mu bwetaavu, era abaavu mu nsi yammwe. “Bwe bakuguzanga Omwebureeyi munno, omusajja oba omukazi, n'akuweereza okumala emyaka mukaaga, mu mwaka ogw'omusanvu omuteeranga ddala n'agenda. Era ng'omuteera ddala okugenda, tomulekanga kugenda nga talina kantu. Omuwanga n'omutima omugabi, ng'otoola ku ndiga n'embuzi, ku mmere ey'empeke ne ku mwenge ogw'emizabbibu, okusinziira ku ebyo Mukama Katonda wo bye yakuweeramu omukisa. Mujjukire nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wammwe n'abanunula, kyenva mbawa ekiragiro ekyo kaakano. “Naye omuddu wo ayinza obutayagala kukuvaako, kubanga akwagala ggwe n'ab'omu maka go, era nga mumativu okusigala naawe. Olwo onookwatanga olukato, n'omuwummula okutu kwe ng'ali ku luggi, n'abeerera ddala muddu wo ennaku zonna. N'omuzaana wo bw'onoomuyisanga bw'otyo. Leka kulowooza nti kizibu okumuteera ddala n'akuvaako, kubanga anaabanga akukoledde emyaka mukaaga, emirimu gya mirundi ebiri egy'omukozi akolera empeera. Bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'onookolanga. “Ente zammwe, embuzi n'endiga zammwe ezisooka okuzaalibwa, munaazaawuliranga Mukama Katonda wammwe. Ente ezo ezisooka okuzaalibwa temuuzikozesenga mirimu, era embuzi n'endiga ezo ezisooka okuzaalibwa, temuuzisalengako byoya. Buli mwaka mmwe n'ab'omu maka gammwe, munaaziriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ekyo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Naye ezinaabeerangako akamogo, nga nnema oba nga zizibye amaaso, oba nga ziriko ekikyamu ekirala kyonna, temuuziwengayo eri Mukama Katonda wammwe. Munaaziriiranga mu bibuga byammwe. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okuziryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza. Naye temuulyenga musaayi gwazo. Munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi. “Mukuumanga omwezi gwa Abibu ne mukola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, kubanga mu mwezi ogwo, Mukama Katonda wammwe mwe yabaggyira mu Misiri ekiro. Mugendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne muweera eyo Mukama Katonda wammwe ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga mukiggya mu nte zammwe oba mu ndiga n'embuzi zammwe. Temuukiriirengako migaati gizimbulukusiddwa. Munaamalanga ennaku musanvu nga mukiriirako migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe mwakola nga muva mu nsi y'e Misiri mu bwangu. Egyo gye migaati egy'okunakuwala. Munaagiryanga mulyoke mujjukire mu bulamu bwammwe bwonna olunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri. Mu nsi yammwe temuubeerengamu alina kizimbulukusa mu nnyumba ye okumala ennaku musanvu. Era ennyama y'ensolo ezitambiddwa akawungeezi k'olunaku olubereberye, teesulengawo okutuusa enkeera. “Ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, temuukiweerengayo mu kibuga na kimu mu ebyo Mukama Katonda wammwe by'abawa. Naye munaakiweerangayo mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Eyo gye munaakiweerangayo akawungeezi, ng'enjuba egwa, mu kiseera nga kye mwaviiramu mu Misiri. Munaakifumbanga ne mukiriira mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, olwo enkeera ne muddayo mu weema zammwe. Mu nnaku omukaaga eziddirira, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza Mukama Katonda wammwe, era temuulukolerengako mirimu. “Munaabalanga wiiki musanvu okuva lwe munaatandikanga okukungula eŋŋaano mu nnimiro, ne mulyoka mukola Embaga eyitibwa eya Wiiki Omusanvu, okussaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga mumuleetera ekiweebwayo kye mwesiimidde okusinziira ku mikisa Mukama Katonda wammwe gy'abawadde. Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Munaasanyukanga nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi ab'omu bibuga byammwe, n'abagwira, ne bamulekwa ne bannamwandu ababeera mu mmwe. Mujjukirenga nga mwali baddu mu Misiri, n'olwekyo mussengayo omwoyo okutuukiriza amateeka gano. “Bwe munaamalanga okutereka bye muwuulidde mu mawuuliro gammwe, ne bye musogoledde mu masogolero gammwe, munaakolanga Embaga ey'Ensiisira okumala ennaku musanvu, nga musanyukira wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe. Munassangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa nga mukola Embaga eno okumala ennaku musanvu, mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bye munaakungulanga byonna, ne mu bye munaakolanga byonna, ne mujjula essanyu. “Abasajja bonna ab'omu ggwanga lyammwe, banajjanga okusinza Mukama Katonda wammwe emirundi esatu mu mwaka: ku mbaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey'Ensiisira, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Era tebajjenga mu maaso ga Mukama nga tebalina kye baleese. Buli muntu anaawangayo nga bw'asobola, okusinziira ku mukisa Mukama Katonda wammwe gw'anaabanga amuwadde. “Nga mugoberera ebika byammwe, munassangawo abalamuzi n'abakulembeze mu bibuga byammwe byonna Mukama Katonda wammwe by'abawa. Banaasaliranga abantu emisango mu bwenkanya. Tebaabenga batali benkanya wadde abeekubiira mu nsala yaabwe, era tebaalyenga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g'omuntu omugezi, era ereetera omutuufu okukyamya ebigambo bye. Bulijjo mubeerenga beesimbu era ba mazima, lwe muliba abalamu ne mwefuga ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa. “Bwe munaabanga mukolera Mukama Katonda wammwe alutaari, temuusimbenga muti gwa kabonero ka lubaale Asera mu mabbali gaayo, era temuusimbenga mpagi ya jjinja eya balubaale, Mukama Katonda wammwe gy'akyawa. “Temuuwengayo kitambiro eri Mukama Katonda wammwe eky'ente oba endiga eriko akamogo, oba akantu konna akatali kalungi, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala. Bwe wanaabangawo mu kimu ku bibuga byammwe Mukama Katonda wammwe by'abawa, omusajja oba omukazi akola ekibi n'amenya endagaano ya Mukama Katonda wammwe, ng'agenze n'aweereza era n'asinza balubaale, oba enjuba, oba omwezi, oba ezimu ku mmunyeenye, ng'awakanya ekiragiro kya Mukama, ne bakibabuulira ne mukiwulira, mubuulirizanga n'obwegendereza. Bwe kinaabanga eky'amazima era ekikakafu ekitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekyenkanidde awo kikoleddwa mu Yisirayeli, omusajja oyo oba omukazi oyo akoze ekintu ekyo ekibi, munaamufulumyanga ebweru w'ekibuga kyammwe ne mumukuba amayinja n'afa. Wabula anattibwanga nga waliwo abajulizi babiri oba basatu abamulumiriza. Bwe wanaabangawo omujulizi omu yekka amulumiriza, omuntu oyo tattibwenga. Beb 10:28 Abajulizi be banaasookanga okumukuba amayinja okumutta, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba, bwe mutyo ne mweggyako ekibi ekyo. “Wanaayinzanga okubaawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe ng'egy'abakaayanira ebintu, oba egy'ebisago ebituusiddwa ku bantu, oba egy'okwawula obutemu n'okutta omuntu mu butali bugenderevu. Olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne mwanjula emisango egyo eri bakabona Abaleevi, n'eri omulamuzi anaabeerangawo mu kiseera ekyo, ne babawa ensala yaabwe. Munaakolanga kye babagambye nga bali mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Era munassangako omwoyo okutuukiriza byonna bye banaabanga babalagidde. Munakkirizanga ensala yaabwe, ne mutuukiriza byonna bye babalagidde awatali kukyusaamu wadde okuwunjawunja. Omuntu anaakolanga emputtu n'atawulira kabona ali eyo mu luwalo lw'okuweereza mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, oba anaajeemeranga omulamuzi, anattibwanga, bwe mutyo ne muggyawo ekibi mu Yisirayeli. Olwo abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne wataba addamu kukola mputtu. “Bwe mulimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa nga mugyefuze ne mukkalira omwo, muliyinza okugamba nti: ‘Tweteerewo kabaka, ng'ab'amawanga gonna agatwetoolodde.’ Mumalanga kukakasa nti muteekawo oyo Mukama gw'aliba yeerobozezza. Mussangawo omu ku b'eggwanga lyammwe okuba kabaka wammwe. Temugezanga ne mweteerawo omugwira, atali wa ggwanga lyammwe okubafuga. Kyokka kabaka tagezanga okwefunira embalaasi ennyingi, wadde okuzzaayo abantu mu Misiri ayongere okufunayo embalaasi ezisingawo obungi, kubanga Mukama yabagamba mmwe nti: ‘Temuddengayo eyo.’ Kabaka alemenga kwewasiza bakazi bangi, omutima gwe guleme kuwugulwa, era alemenga kuba na ffeeza era na zaabu mungi nnyo. Kale bw'alituula ku ntebe ye ey'obwakabaka, alyewandiikira amateeka gano mu kitabo ng'agaggya mu ekyo ekiri ne bakabona Abaleevi. Kinaamubeeranga kumpi n'akisomangamu mu bbanga ery'obulamu bwe bwonna, alyoke ayige okussangamu Mukama Katonda we ekitiibwa, n'okukuumanga ebigambo byonna eby'amateeka gano n'ebiragiro bino, era n'okubituukirizanga. Omutima gwe gulemenga kwekulumbaliza ku Bayisirayeli banne, era alemenga kuwaba n'akatono okuva ku biragiro bino. Olwo aliwangaalira ku bwakabaka bwe, n'ab'ezzadde lye ne babuwangaalirako mu Yisirayeli. “Bakabona Abaleevi n'ab'omu Kika kya Leevi bonna, tebaabenga na mugabo gwa ttaka mu Yisirayeli. Naye banaalyanga ku biweebwayo ebyokebwa, ne ku bitambiro bya Mukama ebirala ebiteekwa okumuweebwa. Tebaabenga na ttaka ng'ab'ebika ebirala. Omugabo gwabwe kwe kubeera bakabona ba Mukama, nga bo bwe yabagamba. “Guno gwe mugabo, abantu abawaayo ekitambiro gwe banaawanga bakabona: bw'eba ente oba endiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, n'ebyenda. Kabona munaamuwanga ekitundu ekisooka okukungulwa eky'eŋŋaano yammwe, n'eky'omwenge gwammwe ogw'emizabbibu, n'eky'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti, n'ebyoya bye musooka okusala ku ndiga zammwe, kubanga mu bika byammwe byonna, Mukama Katonda wammwe yeerobozaamu ab'Ekika kya Leevi okumuweerezanga ennaku zonna mu Weema ey'Okumusisinkanirangamu. “Buli Muleevi anaabanga ayagadde okuva mu kibuga kyonna mw'abeera mu Yisirayeli, n'ajja mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, anaaweerezanga Mukama Katonda we nga baganda be Abaleevi abalala bonna abayimirira mu maaso ga Mukama, bwe bakola. Anaafunanga omugabo gw'emmere gwe gumu nga banne, nga tobaliddeeko ebyo by'anaabanga afunye mu b'eŋŋanda ze. “Bwe mulimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temugezanga ne muyiga okukola eby'omuzizo, ng'ab'amawanga ago bye bakola. Tewaabenga n'omu mu mmwe ayisa mutabani we oba muwala we mu muliro okumuwaayo okuba ekitambiro, wadde akola eby'okulagula, n'eby'obulogo, wadde ayambala ensiriba, oba omusamize, kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa abakola ebintu ebyo ebyenyinyalwa era kyava agoba ab'amawanga ago mu nsi, mmwe nga mulaba. Mmwe mulemenga kubaako kamogo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, kubanga ab'amawanga ago ge mugenda okwefuga, bawuliriza abalaguzi n'emmandwa. Naye mmwe, Mukama Katonda wammwe tabakkirizza kukolanga bwe mutyo. Mukama Katonda wammwe alibayimusiza omulanzi mu mmwe, ow'eggwanga lyammwe, ali nga nze. Oyo gwe muliwulira, nga bwe mwasaba Mukama Katonda wammwe lwe mwakuŋŋaanira ku lusozi Horebu, ne mugamba nti: ‘Tuleme kuddayo kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, wadde okuddamu okulaba omuliro guno omungi, sikulwa nga tufa.’ Mukama n'agamba nti: ‘Kye bagambye kirungi. Ndibayimusiza omulanzi ow'eggwanga lyabwe ali nga ggwe, era ndimutegeeza by'alyogera, n'ababuulira byonna bye ndimulagira. Kale buli atalissaayo mwoyo ku bigambo byange mulanzi oyo by'alyogera mu linnya lyange, ndikimuvunaana. Naye omulanzi aneetulinkirizanga n'ayogera mu linnya lyange ebigambo bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya balubaale, omulanzi oyo anaafanga.’ “Muyinza okwebuuza mu mitima gyammwe nti: ‘Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?’ Omulanzi bw'ayogera mu linnya lya Mukama, ky'ayogedde ne kitabaawo oba ne kitatuukirira, ekyo kye kiba ekintu Mukama ky'atayogedde. Omulanzi aba akyogedde aba yeetulinkirizza, kale temumutyanga. “Mukama Katonda wammwe bw'alimala okuzikiriza ab'amawanga amalala, kaakati abali mu nsi mmwe gy'abawa, ne mudda mu kifo kyabwe, ne mubeera mu bibuga byabwe, ne mu mayumba gaabwe, mulyeronderamu ebibuga bisatu mu nsi yammwe, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okwefuga. Mulyerongooseza enguudo era ne musala mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba eyammwe, n'ebaamu ebitundu bisatu, buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde asobolenga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo ebisatu. Omussi anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe, ye oyo anaabanga asse omuntu mu butali bugenderevu, era nga gw'asse tabadde mulabe we. Okugeza, singa omuntu ayingira ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe. Singa ekibuga kibeera ekimu, olugendo lwandisobodde okuba oluwanvu ennyo okukituukamu, oyo awoolera eggwanga ng'akyalina obusungu olw'omuntu eyattibwa, n'awondera eyatta, n'amutuukako, n'amutta, sso nga teyandisaliddwa gwa kufa kubanga gwe yatta teyali mulabe we. Kyenva mbalagira mweronderemu ebibuga bisatu. “Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo z'ensi yammwe nga bwe yalayirira bajjajjammwe, n'abawa mmwe ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajjammwe, ne mukuumanga ebiragiro bino byonna bye mbawa olwaleero, nti mwagalenga Mukama Katonda wammwe era bulijjo mukolenga by'ayagala, olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu. Mulikola bwe mutyo, sikulwa ng'abantu abataliiko musango battibwa mu nsi yammwe Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, ne muba n'omusango. “Naye omuntu bw'anaakyawanga munne, n'amuteega, n'amufubutukira, n'amukuba n'amutta, n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo, abakulembeze b'ekibuga ky'ewaabwe banaatumanga abantu ne bamuggyayo, n'aweebwayo mu mikono gy'omuntu ateekwa okuwoolera eggwanga olw'oyo eyatemulwa, attibwe. Temuumukwatirwanga kisa, naye muggyangawo omutemu oyo mu Yisirayeli, byonna lwe biribagendera obulungi. “Mu butaka bwe mugenda okufuna mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa mugyefuge, temuukuulenga mpaanyi za nsalo za bibanja bya baliraanwa bammwe, ezinaabanga zimaze okusimbibwa ab'edda. “Omujulizi omu yekka taasingisenga muntu musango olw'ekibi oba olw'ekintu kyonna omuntu ky'anaabanga asobezza. Ensonga eneekakasibwanga lwa bujulizi bwa bantu babiri oba basatu. 1 Tim 5:19; Beb 10:28 Omuntu omubi bw'anaawaayirizanga munne okumusingisa omusango, bombi abatakkaanya banaagendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne balamulwa bakabona n'abalamuzi abanaabeerangawo mu kiseera ekyo. Abalamuzi banaabuulirizanga n'obwegendereza. Bwe banaazuulanga ng'omujulizi mulimba, era ng'awaayirizza munne, munaamuwanga ekibonerezo ky'abadde ayagaliza munne. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo. Awo abantu abalala banaawuliranga ne batya, ne bataddamu kukola kibi ng'ekyo mu mmwe. Ekintu ng'ekyo temuukikwatirwenga kisa. Ekibonerezo kinaabanga bulamu kusasulwa bulamu, liiso kusasulwa liiso, linnyo kusasulwa linnyo, n'ekigere kusasulwa kigere. “Bwe mugendanga okulwanyisa abalabe bammwe, ne mulaba embalaasi n'amagaali n'eggye erisinga eryammwe obunene, temubatyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ali wamu nammwe. Kale bwe munaabanga mugenda okutandika olutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'ab'eggye, n'abagamba nti: ‘Muwulire mmwe Abayisirayeli! Olwaleero munaatera okutandika okulwanyisa abalabe bammwe. Muleme kuddirira na kutya, wadde okukankana. Abalabe bammwe baleme kubatekemula, kubanga Mukama Katonda wammwe ye anaagenda nammwe okulwanyisa abalabe bammwe ku lwammwe, n'okubatuusa mmwe ku buwanguzi.’ “Awo abakulu mu ggye banaayogeranga n'abaserikale, ne babagamba nti: ‘Wano waliwo abadde azimbye ennyumba, kyokka nga tannakola mukolo gwa kugiyingira? Oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo, omuntu omulala n'akola omukolo ogw'okugiyingira. Era ani ali wano, eyasimba ennimiro ey'emizabbibu, atannalya ku bibala byayo? N'oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo ne biriibwa omulala. Wano era waliwo ayogereza omukazi kyokka nga tannamuwasa? Era n'oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo, omukazi n'awasibwa omusajja omulala.’ “Abakulu mu ggye era baneeyongeranga okugamba abaserikale nti: ‘Wano waliwo atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwaamu omutima nga ye.’ Kale abakulu mu ggye bwe banaamalanga okwogera n'abaserikale, banassangawo abaduumizi mu ggye okukulembera abaserikale. “Bwe munaasembereranga ekibuga okukirwanyisa, munaasookanga ne muwa abakirimu omukisa okwewaayo. Bwe banaabaddangamu nti bakkirizza okwewaayo, ne babaggulirawo, abantu bonna abakirimu banaateekwanga okubakoleranga emirimu n'okubaweerezanga. Naye bwe banaagaananga okwewaayo gye muli ne basalawo okubalwanyisa, munaazingizanga ekibuga ekyo. Era Mukama Katonda wammwe bw'anaakiwangayo mu mikono gyammwe ne mukiwangula, munattanga abasajja bonna abakirimu. Naye muneetwaliranga abakazi n'abaana abato, n'amagana, na buli kintu ekinaabanga mu kibuga ekyo. Era munaakozesanga eby'omunyago byonna bye muggye ku balabe bammwe. Ebyo Mukama Katonda wammwe anaabanga abibawadde. Bwe mutyo bwe munaakolanga ne ku bibuga byonna ebibali ewala ennyo, ebitali bya mu nsi gye mugenda okubeeramu. “Naye bwe munaawambanga ebibuga ebiri mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, temuutalizengawo kiramu na kimu ekissa omukka. Munaasaanyizangawo ddala abantu bonna: Abahiiti n'Abaamori, Abakanaani n'Abaperizi, Abahiivi n'Abayebusi, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira mmwe. Mubattanga baleme kubaleetera kukola bibi ne munyiiza Mukama Katonda wammwe, nga babayigiriza okukola eby'emizizo byabwe byonna, bye baakoleranga balubaale baabwe. “Bwe munaamalanga ebbanga eggwanvu nga muzingizizza ekibuga nga mukirwanyisa okukiwamba, temuuzikirizenga miti gyakyo nga mugigalulira embazzi, kubanga muyinza okugiryako ebibala. N'olwekyo temuugitemenga. Kale omuti ogw'omu nnimiro oba ogw'omu ttale, muntu nti muguzingize? Emiti egyo gyokka gye mumanyi nga tegiriibwako bibala, gye munaayinzanga okuzikiriza ne mugitemaatema okugizimbisa bye mwetaaga mu kulwanyisa ekibuga, okutuusa lwe munaakiwambanga. “Mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugyefuga, omuntu bw'anattibwanga, n'asangibwa mu nnimiro oba ttale, ng'amusse tamanyiddwa, abakulembeze n'abalamuzi bammwe banaagendanga ne bapima ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku buli kimu ku bibuga ebiriraanyeewo. Abakulembeze b'ekibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo gw'omuntu eyattibwa, banaatwalanga ennyana etekozesebwangako mirimu, era etebangako ky'ewalula ng'eri mu kikoligo, abakulembeze abo ne bagiserengesa mu kiwonvu omuli amazzi agakulukuta, ekitalimwanga era ekitasigibwangamu birime, ne bamenya era ne bakutulira ensingo yaayo mu kiwonvu ekyo. Ne bakabona ab'omu Kika kya Leevi banajjanga, kubanga abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, era be basalawo ensonga z'abakaayana, n'abalwanaganye. Olwo abakulembeze bonna ab'omu kibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo gw'omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nnyana emenyeddwa ensingo mu kiwonvu, nga bagamba nti: ‘Si ffe twatemula omuntu ono, era tetumanyi yamutemula. Ayi Mukama, kwatirwa ekisa abantu bo Abayisirayeli be wanunula, oleme kubateekako musango gwa kutemula muntu ataliiko musango.’ Kale bwe munaakolanga ebyo Mukama by'alaba nti bituufu, munaggyibwangako omusango ogw'obutemu. “Bwe munaatabaalanga abalabe bammwe, Mukama Katonda wammwe n'abawa abalabe bammwe abo ne mubawangula ne mubatwala nga basibe, ggwe n'olabamu omukazi omulungi, n'omwegomba, n'oyagala okumuwasa, onoomutwalanga ewuwo mu nnyumba yo. Anaamwangako enviiri ze, era anaasalanga enjala ze, n'akyusa engoye ze yawambirwamu, n'abeera mu nnyumba yo. Anaamalanga omwezi mulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina, n'oluvannyuma n'olyoka weebaka naye, n'ofuuka bba, naye n'afuuka mukazi wo. Awo bw'onoolabanga nga takyakusanyusa, onoomulekanga n'agenda gy'ayagala, wabula toomutundengamu nsimbi. Toomuyisenga nga muzaana, kubanga wamutoowaza. “Omusajja bw'anaabanga n'abakazi babiri, ng'omu gw'asinga okwagala, ng'omulala si muganzi, nga bombi baamuzaalira abaana, kyokka ng'omwana omulenzi omuggulanda wa mukazi atali muganzi, omusajja oyo bw'anaatuusanga okulaamira abaana be ebintu by'alina, taafuulenga mwana wa mukazi omuganzi okuba omuggulanda, mu kifo ky'omwana omulenzi omuggulanda omutuufu, eyazaalibwa omukazi atali muganzi. Wabula anakkirizanga nti omwana ow'omukazi atali muganzi ye mwana omuggulanda, n'awa omwana oyo omugabo gwe ogw'emirundi ebiri, ku bintu bye byonna by'alina, kubanga ye mwana eyasooka okuva mu maanyi ge. N'olwekyo eby'omwana omulenzi omuggulanda bibye. “Omuzadde bw'anaabanga alina mutabani we ow'emputtu era omujeemu, atagondera kitaawe oba nnyina, era nga ne bwe bamubonereza, takkiriza kubawulira, olwo bazadde be abo banaamutwalanga eri abakulembeze b'ekibuga ky'ewaabwe, ne bategeeza abakulembeze abo nti: ‘Omwana waffe ono wa mputtu era mujeemu, takyakkiriza kugondera bye tumugamba. Wa mpisa mbi era mutamiivu.’ Awo abasajja bonna ab'omu kibuga ky'ewaabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi mu mmwe. Kale buli anaawuliranga ekyo mu Yisirayeli, anaatyanga. “Omuntu bw'anaakolanga ekibi ekimusaanyiza okufa, ne mumuwanika ku muti, omulambo gwe teguusulenga ku muti, wabula munaamuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikiddwa, aba akolimiddwa Katonda. Kale mulemenga kufaafaaganya nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe. “Toolabenga nte ya munno oba endiga ye ng'ebula, n'ogireka. Oteekwa okugizza gy'ali. Kyokka nnannyiniyo bw'aba tali kumpi naawe, oba bw'oba nga tomumanyi, olwo onoogitwalanga eka ewuwo, n'ogikuuma okutuusa lw'alijja ng'aginoonya n'ogimuddiza. Era bw'otyo bw'onookolanga ng'obadde osanze endogoyi, olugoye, na buli kintu kya munno ekinaabanga kimubuzeeko. Obutafaayo si kirungi. “Toolabenga ndogoyi ya munno oba ente ye ng'egudde ku kkubo, n'ogiyitako. Oyambanga n'ogiyimusa. “Omukazi taayambalenga byambalo bya musajja, n'omusajja taayambalenga byambalo bya mukazi, kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa abakola eby'engeri eyo. “Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku muti oba wansi nga kirimu amagi oba obwana, ekinyonyi nga kiri ku bwana oba ku magi, tootwalenga kinyonyi na bwana. Onooyinzanga okwetwalira obwana naye n'ota nnyina waabwo, lw'olibeera obulungi era n'owangaala. “Bw'ozimbanga ennyumba ey'akasolya abantu kwe bayinza okubeera, akasolya ako okeetooloozanga olukomera, n'otoleetera nnyumba yo musango gwa kutta, singa wabaawo awanattukayo n'agwa. “Toosimbenga kirime kirala mu nnimiro yo ey'emizabbibu, olemenga kufiirwa bibala byonna: eby'ekirime kye wasimbamu, n'ebibala eby'emizabbibu, olw'okuyitibwa ebitali birongoofu. “Toosibenga nte na ndogoyi mu kikoligo kimu okuzirimisa. “Tooyambalenga lugoye lulukiddwa nga batobeka ewuzi ez'ebyoya, n'ez'ekika ekirala. “Onootunganga ebijwenge ku nsonda ennya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala. “Omusajja bw'anaawasanga omukazi, ne babeerako bonna mu by'obufumbo, oluvannyuma n'amukyawa, n'amuwawaabira ng'amwogerako eby'ensonyi, n'ayonoona erinnya lye ng'agamba nti: ‘Nawasa omukazi ono, wabula namusanga si mbeerera,’ kitaawe ne nnyina w'omuwala oyo banaakwatanga olugoye olw'essuuka olwakozesebwa mu buliri ku lunaku olw'embaga, ne balulaga abakulembeze b'ekibuga, mu kifo we basalira emisango, okukakasa nti omuwala yali mbeerera. Kitaawe w'omuwala anaategeezanga abakulembeze nti: ‘Omusajja ono namuwa muwala wange okumuwasa, kyokka kaakano amukyaye. Era wuuno amuwawaabidde ng'amwogerako eby'ensonyi, ng'agamba nti muwala wange teyamusanga nga mbeerera. Naye buno bwe bubonero obulaga nga muwala wange yali mbeerera.’ Ne balyoka banjuluza olugoye mu maaso g'abakulembeze b'ekibuga. Awo abakulembeze b'ekibuga banaakwatanga omusajja ne bamubonereza, era banaamutanzanga ebitundu kikumi ebya ffeeza, ne babiwa kitaawe w'omuwala, kubanga omusajja oyo yayonoona erinnya ly'omuwala embeerera Omuyisirayeli. Omuwala oyo anaabanga mukazi wa musajja oyo, era omusajja oyo mu bulamu bwe bwonna, taagobenga mukazi oyo. “Naye omusajja ky'alumiriza bwe kinaabanga ekituufu, nga tewali bukakafu bulaga nti omuwala yali mbeerera, banaafulumyanga omuwala oyo ne bamuleeta ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga ky'ewaabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta, kubanga yakola eky'ensonyi mu Yisirayeli, eky'okuba ng'akyali ku luggya lwa kitaawe, ate n'amanya omusajja. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo. “Omusajja bw'anaakwatibwanga nga yeebase n'omukazi alina bba, bombi omusajja n'omukazi gwe yeebase naye, banattibwanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo mu Yisirayeli. “Bwe wanaabangawo omuwala embeerera eyamala okwanjula omusajja, ate omusajja omulala n'asanga omuwala oyo mu kibuga, ne yeebaka naye, bombi munaabafulumyanga ne mubaleeta ebweru w'omulyango gw'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja ne bafa. Omuwala anaafanga olw'obutakuba nduulu ate nga yali mu kibuga. N'omusajja anaafanga, kubanga atoowazizza muka munne. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo. “Naye omusajja bw'anaagwikirizanga mu nnimiro oba mu ttale omuwala eyamala okwanjula, n'amukwata ne yeebaka naye, olwo omusajja yekka eyeebase n'omuwala oyo, ye anattibwanga. Temuubengako kabi ke mutuusa ku muwala, kubanga anaabanga talina kibi kimusaanyiza kufa. Kino kifaanana n'eky'omuntu afubutukira munne n'amutta, kubanga omuwala oyo yali mu nnimiro oba mu ttale, omusajja gye yamusanga, omuwala n'akuba enduulu, ne watabaawo amudduukirira. “Omusajja bw'anaagwikirizanga omuwala embeerera atayanjulanga, n'amukwata ne yeebaka naye, ne babasanga, omusajja oyo anaawanga kitaawe w'omuwala ebitundu ataano ebya ffeeza, omuwala oyo n'aba mukazi we, kubanga yamutoowaza. Era takkirizibwenga kumugoba ennaku zonna ez'obulamu bwe. “Omusajja taawasenga muka kitaawe, aleme kuswaza kitaawe. “Eyalaayibwa oba eyasalwako ekitundu ky'omubiri gwe eky'ekyama, taabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama. “Omwana azaalibwa ebweru w'obufumbo obutukuvu, wadde bazzukulu be okutuusa ne ku zzadde ery'ekkumi, tebaabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama, “Omwammoni n'Omumowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ne ku zzadde ery'ekkumi, tebaabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama, kubanga mu lugendo lwammwe nga muva e Misiri, baagaana okubawa emmere n'amazzi. Era baagulirira Balamu mutabani wa Bewori okuva e Petori ekibuga ky'e Mesopotaamiya, okubakolimira. Naye Mukama Katonda wammwe yagaana okuwuliriza ebya Balamu. Mu kifo ky'ekikolimo, n'abawaamu mukisa, kubanga yabaagala mmwe. Ennaku zonna temuukolererenga kuleetawo mirembe na bantu abo, wadde okubayamba okuba obulungi. “Temuunyoomenga Beedomu, kubanga baganda bammwe. Temuunyoomenga Bamisiri, kubanga mwabeerako mu nsi yaabwe. Bazzukulu baabwe bannakabirye banakkirizibwanga okubeera mu nkuŋŋaana z'abantu ba Mukama. “Bwe munaabeeranga mu lusiisira nga mugenda okutabaala abalabe bammwe, muneewalanga buli kintu ekibi. Bwe wanaabangawo mu mmwe omuntu afuuse atali mulongoofu olw'okwerooterera ekiro, anaafulumanga olusiisira, n'abeera ebweru waalwo. Naye obudde bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga, n'akomawo mu lusiisira ng'enjuba egwa. “Munaabeeranga n'ekifo ebweru w'olusiisira gye munaagendanga okweteewuluza. Munaabeeranga n'ekifumu mu bintu byammwe. Anaafulumanga okugenda okweteewuluza, anaasimanga ekinnya, oluvannyuma n'akiziika ng'amaze okweteewuluza. Munaakuumanga olusiisira lwammwe nga luyonjo, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabeeranga wamu nammwe mu lusiisira okubakuuma, n'okubasobozesa okuwangula abalabe bammwe. Mwewalenga buli ekitali kirongoofu, ekiyinza okumunyiiza, n'abakuba amabega. “Omuddu abombye ku mukama we n'ajja gye muli okumukuuma, temuumuzzengayo eri mukama we oyo. Anaabeeranga nammwe mu kifo ky'anaabanga yeerobozezza, mu kimu ku bibuga byammwe. Temuumutulugunyenga. “Tewaabenga mukazi Muyisirayeli akola bwamalaaya, wadde omusajja Omuyisirayeli alya bisiyaga. Ensimbi ezifuniddwa omukazi oba omusajja mu bwamalaaya obw'engeri ezo, temuuzireetenga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe okutuukiriza obweyamo, kubanga Mukama Katonda wammwe akyayira ddala obwamalaaya obwo. “Baganda bammwe be muwola ensimbi oba emmere, oba ekintu ekirala kyonna, temuubaggyengako magoba. Abagwira munaayinzanga okubawola ne mubaggyako amagoba, naye temuugaggyenga ku baganda bammwe be muwoze, Mukama Katonda wammwe lw'anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga mu nsi gye mugenda okwefuga. “Bwe mubangako kye mweyamye okukolera Mukama Katonda wammwe, temuulindirizenga kukituukiriza, kubanga Mukama Katonda wammwe talirema kukibabuuza, ne kibaviiramu ekibi. Naye bwe muteeyamenga, temuubengako kibi kye mukoze. Ekyo kye mubanga musuubizza Mukama Katonda wammwe nga mweyagalidde, mukikuumanga ne mukituukiriza. “Bw'otuukanga mu nnimiro ey'emizabbibu ey'omuntu omulala, onooyinzanga okulya ku mizabbibu nga bw'oyagala n'okkuta. Naye toobengako gy'otwalira mu kintu kyo na kimu. Bw'otuukanga mu nnimiro y'eŋŋaano ey'omuntu omulala, onooyinzanga okunoga ku birimba n'olya, naye toosalenga na kiwabyo ŋŋaano ya muntu mulala. “Omusajja bw'awasanga omukazi, omukazi n'atasanyusa musajja oyo, kubanga omusajja azudde ekitali kirungi ku mukazi oyo, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimukwasa, n'amugoba mu maka ge. Omukazi bw'anaavanga mu maka g'omusajja oyo, anaayinzanga okugenda n'afumbirwa omusajja omulala. Ne bba owookubiri bw'anaamukyawanga n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba mu maka ge, oba bba oyo owookubiri bw'anafanga, olwo bba oli eyasooka okumugoba taddengamu kumuwasa. Omukazi oyo aba amaze okwonooneka. Okuddamu okumuwasa kiba kya muzizo mu maaso ga Mukama. Temuukolenga kibi kyenkanidde awo mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe. “Omusajja nga yaakawasa, taatabaalenga mu ggye, wadde okukozesebwa omulimu omulala ogwa lukale. Anaalekebwanga n'abeera awaka omwaka gumu, n'asanyuka ne mukazi we gw'awasizza. “Tewaabenga asingirwa lubengo wadde enso ebisa emmere, kubanga kwandibadde ng'okusingirwa obulamu bwennyini. “Buli abuzaawo Muyisirayeli munne n'amufuga obuddu, oba n'amutunda, anattibwanga. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo. “Bwe mukwatibwanga endwadde ey'ebigenge, mwegenderezenga okukwatira ddala n'okutuukiriza byonna bakabona Abaleevi bye babagamba. Nga bo bwe nabalagira, bwe mutyo bwe muneegenderezanga okutuukiriza. Mujjukire Mukama Katonda wammwe kye yakola ku Miriyamu bwe mwali mu lugendo nga muva e Misiri. “Bw'onoobangako ky'oyazika munno, tooyingirenga mu nnyumba ye okuggyayo ekyambalo ky'agenda okukuwa ng'omusingo. Onooyimiriranga bweru, ye gw'oyazika n'akikuleetera. Era bw'abanga omwavu, ky'akusingidde tookisigazenga okutuusa enkeera. Onookimuddizanga akawungeezi asobole okukisulamu, akusabire omukisa, era Mukama Katonda wo alyoke akusiime. “Omuntu akolera empeera nga mwavu era ng'ali mu bwetaavu, toomuyiikirizenga, k'abe Muyisirayeli munno, oba omugwira abeera mu kimu ku bibuga byammwe. Buli lunaku lw'akoze, onoomuwanga empeera ye ng'enjuba tennagwa, kubanga empeera ye agyetaaga, era aba alindiridde okugifuna. Bw'otogimuwa, ajja kukaabirira Mukama ng'akuwawaabira, n'oba ng'okoze kibi. “Abazadde tebattibwenga lwa misango gizziddwa baana baabwe, n'abaana tebattibwenga lwa misango gizziddwa bazadde baabwe. Omuntu anattibwanga lwa musango gw'aba azzizza yennyini. “Temuukyamyenga nsala ya musango gwa mugwira wadde ogwa mulekwa, era temuusingirwenga kyambalo kya nnamwandu. Mujjukire nga mwali baddu mu Misiri, Mukama Katonda wammwe n'abanunulayo, kyenva mbawa ekiragiro ekyo. “Bw'okungulanga ebirime byo mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa ky'eŋŋaano, toddengayo kukiggyayo. Ekyo okirekeranga bagwira, bamulekwa, ne bannamwandu, Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'okola. “Bw'onoganga ebibala by'omuzayiti, toddenga mu matabi okunoga ebisigaddemu. Obirekeranga bagwira, bamulekwa, ne bannamwandu. Bw'okungulanga emizabbibu mu nnimiro yo, toddengamu kulonderera gisigaddemu. Ogirekeranga bagwira, bamulekwa, ne bannamwandu. Mujjukire nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, kyenva mbawa ekiragiro ekyo. “Abantu bwe banaabanga n'enkaayana ne bajja okubasalirawo, banaasalirwanga, omutuufu n'asinga omusango, omusobya ne gumusinga. Awo omusobya bw'anaabanga azzizza omusango ogunaamukubya, omulamuzi anaalagiranga ne bamugalamiza mu maaso ge, ne bamukuba emiggo egisaanira omusango gwe yazza. Ayinza okumusalira emiggo okutuuka ku makumi ana, kyokka taasussengawo. Okumukuba egisinga awo, kyandibadde kumuweebuula mu banne. “Toosibenga nte mumwa ng'ewuula. “Abasajja abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu ku bo n'afa nga tazadde mwana wa bulenzi, nnamwandu we taafumbirwenga musajja mulala atali waaluganda lwa mufu. Muganda w'omufu anaatwalanga nnamwandu oyo amuwase, amukolere ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we. Omwana ow'obulenzi gw'anaasookanga okuzaala, ye anabbulanga erinnya lya muganda we eyafa, lireme kusaanawo mu Yisirayeli. Naye omusajja oyo bw'anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga ku mulyango gw'ekibuga awatuula abakulembeze, n'abagamba nti: ‘Muganda wa baze agaana okubbula erinnya lya muganda we mu Yisirayeli. Tayagala kunkolera ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we.’ Abakulembeze b'ekibuga banaamuyitanga ne boogera naye. Bw'anaakakasanga n'agamba nti: ‘Ssaagala kumuwasa,’ nnamwandu wa muganda we anajjanga w'ali mu maaso g'abakulembeze, n'amunaanulamu engatto mu kigere ekimu, n'amufujjira amalusu mu maaso, n'amugamba nti: ‘Omusajja agaana okuzaalira muganda we omusika, bw'atyo bw'ayisibwa!’ Amaka ge mu Yisirayeli ganaayitibwanga, ‘Amaka g'eyanaanulwa engatto.’ “Abasajja bwe banaabanga balwanagana bokka na bokka, mukazi w'omu ku bo n'ajja okutaasa bba, n'agolola omukono n'akwata ebitundu eby'ekyama eby'omusajja alwana ne bba, atemwangako omukono awatali kumulaga kusaasira. “Temuukumpanyenga, ne mukozesa ebipimo ebikyamu okupima obuzito, n'ebigero ebitali bituufu okugera obungi bw'ebintu. Mukozesanga ebipimo ebituufu n'ebigero ebijjuvu, lwe muliwangaalira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa buli akola ebibi ebiri ng'ebyo. “Mujjukire Abameleki kye baabakola mmwe, bwe mwali mu lugendo nga muva mu Misiri. Baabalumba mmwe mu kkubo, bwe mwali mukooye era nga muweddemu amaanyi, ne batatya Katonda, ne batta bonna abaali basembyeyo emabega, abaali bajja basenvula. Kale Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubatebenkeza mmwe, n'abaggyirawo abalabe bammwe bonna ababeetoolodde mu nsi gy'abawa okuba obutaka bwammwe, mulisaanyizaawo ddala Abameleki abo, baleme kujjukirwanga ku nsi. Temukyerabiranga ekyo. “Bwe mulimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, ne mugyefuga era ne mukkalira mu yo, buli omu mu mmwe anaateekanga mu kibbo ekitundu ekisooka okukungulwa, eky'ebirime bye byonna by'anaabanga alimye mu nsi eyo Mukama Katonda wammwe gy'abawa, n'akitwala mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Anaagendanga eri kabona anaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo, n'agamba nti: ‘Kaakano njatulira Mukama Katonda wo nti nnyingidde mu nsi, Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okutuwa.’ “Kale kabona anaggyanga ekibbo mu mikono gyo, n'akissa wansi mu maaso ga alutaari ya Mukama Katonda wo. Olwo ggwe onooyogereranga ebigambo bino mu maaso ga Mukama Katonda wo nti: ‘Jjajjange yali Mwarameeya omubungeese. Yaserengeta e Misiri n'abeera eyo n'ab'omu maka ge, abataali bangi. Baayalira eyo, ne bafuuka eggwanga eddene ery'amaanyi. Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, ne bakalubya obulamu bwaffe. Ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajjaffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe n'okutegana kwaffe, n'okunyigirizibwa kwaffe. Mukama n'atuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza obungi n'amaanyi n'obuyinza, era ng'akola ebyewuunyo n'ebyamagero n'eby'entiisa ennyo. N'atuleeta kuno, n'atuwa ensi eno, ensi engimu era engagga. Era kaakano nzuuno ndeese bye nsoose okukungula mu ttaka lye wampa ayi Mukama.’ “Onoobiteekanga mu maaso ga Mukama Katonda wo, n'omusinza. Onoosanyukanga olw'ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe, n'ab'omu maka go, n'Abaleevi era n'abagwira ababeera mu mmwe. “Buli mwaka ogwokusatu, muneesoloozangamu ekitundu kimu eky'ekkumi ekya byonna bye mukungudde mu mwaka ogwo ogusoloolezebwamu ekitundu ekyo eky'ekkumi, ne mukiwa Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nabo baliirenga mu bibuga byammwe bakkute. Olwo onooyogereranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti: ‘Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu maka gange, era mbiwadde Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga bwe wandagira okukola. Tewali kiragiro kyo na kimu kye nsobezza, wadde kye neerabidde. Tewali kimu kya kkumi kye ndidde nga ndi mu kukungubaga, oba okukiggya we kibadde nga siri mulongoofu, wadde okubaako kye mpaayo eri emizimu. Mpulidde by'ogamba, ayi Mukama Katonda wange, ntuukirizza byonna bye wandagira. Tunula ng'osinziira mu ggulu mu kifo kyo ekitukuvu, owe omukisa abantu bo Abayisirayeli, n'ensi engimu era engagga gy'otuwadde, nga bwe walayirira bajjajjaffe.’ “Olwaleero Mukama Katonda wammwe abalagira okutuukirizanga amateeka gano n'ebiragiro. Kale mwegenderezenga okubituukiriza n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna. Mukakasizza olwaleero nga Mukama ye Katonda wammwe, era nga munaamuwuliranga ne mukuuma amateeka ge n'ebiragiro bye, ne by'abakuutira byonna. Era Mukama akakasizza olwaleero nga muli babe abenjawulo nga bwe yabasuubiza, n'abalagira okukwatanga ebiragiro bye byonna, alyoke abakuze okusinga amawanga amalala gonna ge yatonda, mugasinge ettendo n'ettutumu n'ekitiibwa, era mubeererenga ddala ggwanga lya Mukama nga bwe yagamba.” Awo Musa, ng'ali wamu n'abakulembeze ba Yisirayeli, n'agamba abantu nti: “Mukuumenga ebiragiro byonna bye mbawa olwaleero. Ku lunaku lwe mulisomoka Omugga Yorudaani, ne muyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, mulisimba amayinja amanene, ne mugasiigako ennoni, ne mugawandiikako ebigambo byonna eby'amateeka gano nga mumaze okusomoka, olwo ne mulyoka muyingira mu nsi engimu era engagga, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabasuubiza mmwe. Kale nga mumaze okusomoka Omugga Yorudaani, mulisimba amayinja ago ku Lusozi Ebali, nga bwe mbalagira olwaleero, ne mugasiigako ennoni. Eyo mulizimbirayo Mukama Katonda wammwe alutaari ey'amayinja ge mutayasizza na kyuma, kubanga alutaari ya Mukama Katonda wammwe, munaagizimbisanga mayinja gatali maase, era okwo kwe munaaweerangayo eri Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo ebyokebwa. Munaatambiranga ebiweebwayo olw'okutabagana, ne muliira eyo, ne musanyukira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. Era muliwandiikira ddala bulungi ku mayinja ago, ebigambo byonna eby'amateeka ago.” Awo Musa ng'ali wamu ne bakabona Abaleevi n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Musirike muwulire mmwe Abayisirayeli. Olwaleero mufuuse ggwanga lya Mukama Katonda wammwe. Kale mumuwulirenga era mutuukirizenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero.” Awo Musa n'akuutira abantu ku lunaku olwo ng'agamba nti: “Bwe mulimala okusomoka Omugga Yorudaani, ab'Ebika bino: ekya Simyoni, n'ekya Leevi, n'ekya Yuda, n'ekya Yissakaari, n'ekya Yosefu, n'ekya Benyamiini, be baliyimirira ku Lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa. Ate ab'Ebika bino: ekya Rewubeeni, n'ekya Gaadi, n'ekya Aseri, n'ekya Zebbulooni, n'ekya Daani, n'ekya Nafutaali, be baliyimirira ku Lusozi Ebali okukolima. Abaleevi baligamba Abayisirayeli bonna mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “ ‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole, oba ekibajje, oba ekikolebwa mu bintu ebisaanuuse Mukama ky'akyayira ddala, n'akiteekawo mu kyama, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli anyooma kitaawe oba nnyina, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli ajjulula ensalo z'ekibanja kya muliraanwa we, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli awabya muzibe okumuggya mu kkubo ettuufu, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli akyamya ensala y'omusango gw'omugwira ne mulekwa ne nnamwandu, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli musajja asobya ku muka kitaawe, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli asobya ku nsolo, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli asobya ku mwannyina, omwana wa kitaawe oba owa nnyina, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli eyeebaka ne nnyazaala we, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli atemulira omuntu mu nkukutu, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo,’ “ ‘Buli agulirirwa okutemula omuntu, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “ ‘Buli atakuuma era atatuukiriza mateeka gano, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’ “Bwe munaanyiikiranga okuwulira Mukama Katonda wammwe, ne mukwatanga ebiragiro bye byonna bye mbawa olwaleero, era ne mubituukiriza, Mukama Katonda wammwe alibafuula ggwanga kkulu okusinga amawanga amalala gonna agali ku nsi. Bwe munaawuliranga Mukama Katonda wammwe, emikisa gino gyonna ginaabajjiranga ne mugifuna: “Munaabanga n'omukisa mu bibuga byammwe, era munaabanga n'omukisa mu nnimiro zammwe. “Munaabanga n'omukisa ne muzaala abaana bangi, era ne mwaza ebirime, n'ebiraalo by'ente, n'amagana g'endiga n'embuzi. “Emmere gye munaalimanga ne gye munaafumbanga okulya, eneebanga n'omukisa. “Munaabanga n'omukisa nga muyingira, era munaabanga n'omukisa nga mufuluma. “Abalabe bammwe ababalumba, Mukama anaabawangulanga nga mulaba. Banaakwatanga ekkubo limu nga bajja okubalumba mmwe, ne babadduka nga babunye emiwabo. “Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye mukola, n'ajjuza amawanika gammwe. Anaabaweeranga mmwe omukisa mu nsi gy'abawa. “Bwe munaawuliranga Mukama Katonda wammwe ne mukola by'abalagira, anaabakuumanga nga muli ggwanga lye nga bwe yabalayirira. Olwo amawanga gonna ag'oku nsi ganaabatyanga mmwe, nga galaba Mukama abayita babe. Era Mukama anaabawanga mmwe ebirungi bingi, ne muzaala abaana, ne muba n'ebisolo bingi, era ne mwaza ebibala mu ttaka lyammwe mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa mmwe. Mukama anaabaggulirangawo etterekero lye ery'ebirungi, eggulu ne litonnyesanga mu nsi yammwe enkuba mu biseera byayo. Era byonna bye mukola anaabiwanga omukisa, ne muwolanga amawanga mangi, naye mmwe nga temwewola. Mukama mmwe anaabafuulanga bakulembeze, sso si bagoberezi. Munaabeeranga ku ntikko bulijjo, awatali kukka, kasita munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbawa olwaleero, ne mubikuumanga era ne mubituukirizanga. Temugezanga ne muwaba wadde okuwunjawunja okuva ku ebyo bye mbalagira olwaleero, ne musinzanga balubaale era ne mubaweerezanga. “Naye bwe mutaliwulira Mukama Katonda wammwe, kukwata mateeka ge na biragiro bye, bye mbawa olwaleero, ebikolimo bino byonna biribajjira ne bibabeerako: “Mulikolimirwa mu bibuga, era mulikolimirwa mu nnimiro. “Emmere gye munaalimanga ne gye munaafumbanga okulya, eneebanga nkolimire. “Ezzadde lyammwe ne bye munaalimanga mu ttaka lyammwe, n'ebiraalo by'ente zammwe era n'amagana g'endiga n'embuzi zammwe, binaabanga bikolimire. “Munaabanga bakolimire nga muyingira, era munaakolimirwanga nga mufuluma. “Bwe munaakolanga ebibi ne mweggya ku Mukama, Mukama anaabasindikiranga ekikolimo ne musoberwa era ne munenyezebwa mu byonna bye munaatuusangako engalo okukola, okutuusa lwe mulizikirizibwa ne muggwaawo mangu. Anaabasindikiranga kawumpuli n'abeesibako, okutuusa lwe watalisigalawo n'omu ku mmwe mu nsi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga. Mukama anaabalwazanga akafuba n'omusujja n'okuzimba, n'okubabuukirirwa okungi. Anaabasindikiranga entalo n'ekyeya n'okugengewala kw'ebirime. Ebyo byonna binaabeesibangako okutuusa lwe mulizikirira. Eggulu linaabanga ng'ekikomo, ne litabatonnyeseza nkuba, ettaka lyammwe ne likala, ne liba ng'ekyuma. Mu kifo ky'enkuba, Mukama anaasindikanga mbuyaga ya nfuufu n'omusenyu mu nsi yammwe, okutuusa lwe mulizikirira. “Mukama anaabavangamu ne muwangulwa abalabe bammwe. Munaakwatanga ekkubo limu okugenda okubalumba, ne mubadduka nga mubunye emiwabo. Amawanga gonna ku nsi ganaalabanga ebibatuuseeko mmwe ne gatya. Era nga mufudde, ebinyonyi n'ebisolo binaalyanga emirambo gyammwe, ne wataba abigobawo. Mukama alibalwaza mmwe amayute nga ge yalwaza Abamisiri, n'amabwa, n'ebizimba, n'okwetakula ebitaliwonyezebwa. Mukama anaabasuulanga eddalu, anaabafuulanga bamuzibe, era anaabeeraliikirizanga. Munaawammantanga mu ttuntu, nga muzibe bw'awammanta mu kizikiza, era temuubenga na mukisa mu bye mukola. Munaanyigirizibwanga era munaanyagibwangako ebyammwe buli kiseera, nga tewali abayamba. “Munaayogerezanga abakazi, abasajja abalala ne basobya ku bakazi abo. Munaazimbanga ennyumba ne mutazibeeramu. Munaasimbanga ennimiro z'emizabbibu, ne mutalya ku bibala byazo. Ente zammwe zinattibwanga nga mulaba, ne mutalya ku nnyama yaazo. Endogoyi zammwe zinaanyagibwanga nga mutunula, ne zitabaddizibwa. Endiga zammwe zinaagabirwanga abalabe bammwe, mmwe ne wataba abayamba. Batabani bammwe ne bawala bammwe banaagabirwanga abagwira nga mulaba. Buli lunaku munaakandanga kutunula nga mwagala bakomewo, naye nga temulina kye muyinza kukola. Ab'eggwanga eddala balirya emmere gye mwalima ku ttaka lyammwe n'ebirala byonna bye mwateganira, nga munyigirizibwa bunyigirizibwa era nga mujoogebwa bulijjo, ennaku gye mulaba eryoke ebasuule eddalu. Mukama anaabalwazanga ku maviivi ne ku magulu amayute agatawonyezeka, ne gababuna okuva ku bigere okutuuka ku mutwe. “Mmwe ne kabaka gwe munaabanga mutaddewo okubafuga, Mukama anaabatwalanga mu nsi engwira, mmwe ne bajjajjammwe gye mutabeerangamu, ne muweereza balubaale ababajje mu miti ne mu mayinja. Mu nsi Mukama mw'anaabanga abatutte, abantu baayo baneewuunyanga ekibatuuseeko mmwe, ne muwemuka era ne musekererwa. “Munaatwalanga ensigo nnyingi ne muzisiga mu nnimiro, naye ne mukungula kitono, kubanga enzige zinaabiryanga. Munaasimbanga ennimiro ez'emizabbibu ne muzirabirira, naye temuukungulengamu mizabbibu wadde okunywa ku mwenge gwagyo, kubanga obuwuka buligirya. Munaabeeranga n'emizayiti mu nsi yammwe yonna, naye temwesiigenga ku muzigo gwagyo, kubanga ebibala byagyo binaakunkumukanga. Mulizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye temulibeera nabo, kubanga balitwalibwanga mu busibe. Emiti n'ebirime byammwe byonna, binaaliibwanga enzige. “Abagwira ababeera mu nsi yammwe baneeyongeranga okukulaakulana okusinga mmwe, nga mmwe mweyongera kufeeba. Bo banaabawolanga mmwe, naye mmwe temuubenga na kye muyinza kubawola. Be banaafuganga mmwe. “Ebikolimo ebyo byonna binajjiranga mmwe, ne bibeesibako, ne bibeera nammwe, kubanga temwawulira Mukama Katonda wammwe, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye yabawa mmwe. Ebikemo ebyo binaabatuukangako mmwe n'ezzadde lyammwe, ne biba ebyewuunyo n'ebyamagero ebibalumiriza omusango ennaku zonna. Mukama Katonda wammwe yabawa ebirungi bingi, naye mmwe ne mugaana okumuweereza n'omutima ogujjudde essanyu n'okujaguza. N'olwekyo abalabe bammwe Mukama b'anaasindikanga okubalumba mmwe, munaabaweerezanga nga mulumwa enjala n'ennyonta, nga muli bukunya, era munaabulwanga byonna bye mwetaaga. Mukama anaabateekanga mmwe ekikoligo eky'ekyuma mu nsingo, anaababonyaabonyanga mmwe n'obukambwe okutuusa lw'alibazikiriza. Mukama alibaleetera mmwe abantu ab'eggwanga eddala, aboogera olulimi lwe mutategeera, b'aliggya ewala ku nkomerero y'ensi, ne bafubutuka ne babalumba ng'empungu bw'ebuuka okulumba. Abo baliba bakambwe, abatafa ku bakadde, wadde okusaasira abaana abato. Banaalyanga ensolo zammwe, n'emmere yammwe gye mulimye, obutabalekerawo ŋŋaano, na mwenge gwa mizabbibu, na muzigo gwa mizayiti, wadde ente n'endiga n'embuzi, ne mufa enjala, ne muzikirira. Banaabazingizanga mmwe mu bibuga byammwe byonna, mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawadde, ebigo byammwe ebigulumivu era ebigumu bye mwesiga ne bigwa. Mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe bammwe, munaalyanga abaana bammwe, ennyama ya batabani bammwe ne bawala bammwe Mukama Katonda wammwe be yabawa. Omusajja ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, anaatunuuliranga bubi muganda we ne mukazi we gw'ayagala ennyo n'abaana be abalamu b'akyasigazizzaawo, n'atabaako n'omu ku bo gw'awa ku nnyama ya baana be b'anaalyanga, nga talina kirala ky'alya mu kuzingizibwa, ne mu kunyigirizibwa abalabe bammwe kwe munaabangamu mu bibuga byammwe byonna. Omukazi ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, ataganya na kulinnya kigere kye mu ttaka olw'empisa ze n'olw'ekitiibwa kye, anaatunuuliranga bubi bba gw'ayagala ennyo, ne mutabani we ne muwala we, n'abalyako mu bubba omwana gwe yaakazaala, era n'ekitanyi kye, olw'okubulwa ebyokulya mu kuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe bammwe mu bibuga byammwe. “Bwe mutaakwatenga biri mu mateeka gano gonna agawandiikiddwa mu kitabo kino ne mugatuukiriza, era bwe mutaatyenga linnya lya Mukama Katonda wammwe, ery'ekitiibwa era ery'entiisa, Mukama anaabaleeteranga mmwe n'ezzadde lyammwe okubonaabona okutatendeka, okunene era okutasalako, n'endwadde embi era ezitawona. Era alibalwaza endwadde zonna ez'e Misiri ze mwatyanga. Ziribeezingako mmwe. Era anaabaleeteranga buli ndwadde n'okubonaabona ebitawandiikiddwa mu kitabo kya mateeka gano, okutuusa lwe mulizikirizibwa. Ne bwe mulyala ennyo ne muba ng'emmunyeenye ez'oku ggulu obungi, abaliwonawo muliba batono, kasita mutaliwulira Mukama Katonda wammwe. Nga Mukama bwe yasanyuka okubakolera ebirungi n'okubafuula abangi, bw'atyo bw'anaasanyukanga okubazikiriza n'okubasaanyaawo, abamalewo mu nsi gye muyingira okugyefuga, “Mukama anaabasaasaanyanga mmwe mu mawanga gonna, okuva ensi w'etandikira okutuuka w'ekoma. Eyo gye munaasinzizanga balubaale ab'emiti n'amayinja, abaali batamanyiddwa mmwe wadde bajjajjammwe. Era mu mawanga ago, temulyesiimirayo n'akatono. Temulibaako we muteredde, wabula Mukama alibawa emitima egitateredde, nga temulaba gye mulaga era nga temulina ssuubi. Obulamu bwammwe temuubwekakasengamu. Emisana n'ekiro munaabeeranga mu mutya, nga temukakasa bulamu bwammwe bwe bunaabeera. Ku makya munaagambanga nti: ‘Singa nno bubadde kawungeezi!’ Akawungeezi ne mugamba nti: ‘Singa nno bubadde ku makya!’ Ebyo munaabyogeranga olw'emitima gyammwe okwekengera buli kye mulaba. Mukama alibaddizaayo mu maato e Misiri, gye nabagamba nti temuliddayo. Nga muli eyo, muneewangayo eri abalabe bammwe babagule mube abaddu n'abazaana, naye tewaabenga abagula.” Eno ye ndagaano, Mukama gye yalagira Musa okukola n'Abayisirayeli mu nsi ya Mowaabu, ng'eyongerwa ku ndagaano, Mukama gye yakola nabo ku Lusozi Horebu, Musa n'ayita Abayisirayeli bonna, n'agamba nti: “Mwerabirako n'amaaso gammwe ebyo byonna Mukama bye yakola mu nsi y'e Misiri ku kabaka waayo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna. Mwalaba okugezebwa okw'amaanyi n'ebyewuunyo, n'ebyamagero ebikulu. Kyokka n'okutuusa kaakano, Mukama tabawadde mmwe mutima ogutegeera, wadde amaaso agalaba, n'amatu agawulira. Emyaka amakumi ana bukya mbakulembera mu ddungu, ebyambalo byammwe tebibayulikidde ku migongo, n'engatto zammwe tezibakutuseeko mu bigere. Temubadde na mmere gye mulya, oba omwenge ogw'emizabbibu wadde ekitamiiza kyonna kye munywa, naye Mukama yabawa bye mwetaaga mulyoke mumanye nga Mukama ye Katonda wammwe. Era bwe twatuuka mu kifo kino, Sihoni Kabaka w'e Hesubooni, ne Ogi kabaka w'e Basani, baasituka ne batulumba okutulwanyisa. Naye ne tubawangula, ne twefuga ensi yaabwe, ne tugigabanya mu Bika: ekya Rewubeeni, n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri ky'Ekika kya Manasse. Kale mukuumenga ebigambo ebiri mu ndagaano eno, mubituukirizenga, mulyoke mubenga n'omukisa mu byonna bye mukola. “Olwaleero Abayisirayeli muyimiridde mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mwenna abakulu b'ebika byammwe, abakulembeze bammwe, abafuzi bammwe, abasajja, abakazi, abaana abato, n'abagwira ababeera mu mmwe ababatyabira enku era ababakimira amazzi. Muzze mubeere mu ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gy'akola nammwe olwaleero, ng'erimu okweyama okugituukirizanga, abanyweze, mube abantu be, Ye abe Katonda wammwe, nga bwe yabagamba mmwe, era nga bwe yalayirira bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo. Mukama takola nammwe mwekka endagaano eno erimu okweyama okugituukirizanga, wabula agikola naffe ffenna abayimiridde wano mu maaso ge olwaleero, era n'abaana baffe ne bazzukulu baffe abatannazaalibwa. “Mumanyi bulungi embeera gye twalimu mu nsi y'e Misiri, era nga bwe twatambula okuyita mu nsi z'ab'amawanga amalala. Mwalaba ebyenyinyalwa bye baalina: ebifaananyi, emiti, amayinja, ffeeza ne zaabu, ebyasinzibwanga mu bo. Walemenga kubaawo musajja oba omukazi oba amaka, oba ekika, mu bali wano olwaleero, akyamya omutima gwe n'ava ku Mukama Katonda waffe, okusinza balubaale b'amawanga gali, n'aba ng'omulandira ogusibukako ekimera eky'obutwa era ekikaawa. Bwe wabaawo awulira ebigambo by'ekikolimo kino ne yeekubagiza mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Nja kuba n'emirembe ne bwe nnaagugubira mu bukakanyavu bw'omutima gwange’, ekyo kiba kya kuzikiriza mwenna, abalungi n'ababi. Mukama taamusonyiwenga. Era Mukama atayagala kuvuganyizibwa, anaasunguwaliranga nnyo omuntu oyo, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ne bimubaako, Mukama n'amusaanyizaawo ddala ku nsi. Era Mukama alimufuula ekyokulabirako mu bika bya Yisirayeli byonna, n'amutuusaako akabi, ng'ebikolimo byonna eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'Amateeka bwe biri. “Mu mirembe egijja, ezzadde lyammwe eriribaddirira, n'abagwira abanaavanga mu nsi ez'ewala, banaalabanga ebibonyoobonyo by'ensi yammwe, n'endwadde Mukama z'agireeseemu, ne balaba ng'ensi eyo yonna eyokeddwa, ng'efuuse buganga na munnyo. Eriba tekyasigibwamu kantu, nga terina ky'esobola kubaza, era nga tekyameramu muddo. Eriba ezikiriziddwa nga Sodoma ne Gomora, Abuda ne Zeboyiimu, Mukama bye yakwatirwa obusungu n'ekiruyi n'abizikiriza. Ab'amawanga gonna balyebuuza nti: ‘Lwaki Mukama akoze ekyo ku nsi eno? Kiki ekyamusunguwaza ennyo bw'atyo?’ Abantu banaabaddangamu nti: ‘Kubanga baamenya endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagenda ne baweereza era ne basinza balubaale be baali batasinzangako era Mukama be yabagaana okusinzanga, Mukama kyeyava asunguwalira ensi eno, n'agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Mukama mu busungu n'ekiruyi ne mu kunyiiga okungi, abantu be n'abasimbulayo mu nsi yaabwe, n'abakasuka mu nsi endala n'okutuusa kati.’ “Ebyo Mukama Katonda waffe by'atatumanyisa, bisigala nga bibye. Kyokka yatumanyisa Amateeka ge, ffe n'ezzadde lyaffe, tulyoke tugakuumenga ennaku zonna. “Ebyo byonna eby'omukisa n'ekikolimo bye ntadde mu maaso gammwe, bwe birimala okubatuukako, ne mubijjuukiriranga mu mawanga gonna, Mukama Katonda wammwe gy'abasaasaanyizza, mmwe n'abaana bammwe munaakyukanga ne mudda eri Mukama Katonda wammwe. Era ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero, bwe munaabigonderanga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, Mukama Katonda wammwe anaabakwatirwanga ekisa. Anaabakuŋŋaanyaangayo n'abaggya mu mawanga gonna gye yabasaasaanyiza, n'abakomyawo. Ne bwe muliba musaasaanyiziddwa mu nsonda z'ensi ez'ewala, Mukama Katonda wammwe alibakuŋŋaanyaayo n'abakomyawo, n'abateeka mu nsi bajjajjammwe gye baafuna, ne mugyefuga, n'abawa mmwe ebirungi, n'abafuula bangi okusinga bajjajjammwe. Mukama Katonda wammwe aligonza emitima gyammwe n'egy'abaana bammwe, ne muba babe, ne mumwagala n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, ne muba balamu. Aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bammwe, ne ku abo ababakyawa mmwe era abaabayigganyanga. Era muliddamu okugondera Mukama, n'okutuukiriza ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero. “Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga, ne muzaala abaana bangi, n'ensolo zammwe ne zeeyongera okwala, era ne mubaza ebirime. Mukama aliddamu okusanyukira okubawa mmwe omukisa, nga bwe yasanyukiranga okuguwa bajjajjammwe, kasita munaamuwuliranga, ne mutuukiriza amateeka ge n'ebiragiro bye, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'Amateeka. “Ekiragiro kino kye mbawa olwaleero, si kizibu nnyo, era tekibasukkiridde. Tekiri mu ggulu, mulyoke mugambe nti: ‘Ani anaatulinnyirayo akituleetere, atusobozese okukiwulira, tulyoke tukituukirize?’ Era tekiri mitala wa nnyanja, mutuuke n'okugamba nti: ‘Ani alituwungukira ennyanja akituleetere, atusobozese okukiwulira, tulyoke tukituukirize?’ Naye kiri kumpi nnyo nammwe. Kiri mu kamwa kammwe, ne mu mitima gyammwe, musobole okukituukiriza. “Nzuuno olwaleero ntadde mu maaso gammwe ekirungi n'ekibi, era obulamu n'okufa, kubanga mbalagira olwaleero okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okukoleranga ku by'abakuutira, n'okukuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye byonna, mulyoke mubenga balamu, muzaalenga mwale, Mukama Katonda wammwe abawenga omukisa mu nsi gye mugenda okuyingiramu mugyefuge. Naye emitima gyammwe bwe ginaawabanga ne mutawulira, era ne musendebwasendebwa, ne musinza balubaale, ne muba baweereza baabwe, mbategeereza ddala olwaleero nga temulirema kuzikirira. Temuliwangaalira mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani. Nkoowoola olwaleero eggulu n'ensi okuba abajulizi ababalumiriza mmwe, nga ntadde mu maaso gammwe obulamu n'okufa, omukisa n'ekikolimo. Kale mulondeko obulamu, mulyoke mubenga balamu mmwe n'ezzadde lyammwe. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mumuwulirenga, mumunywererengako, kubanga ye bwe bulamu bwammwe, bwe buwangaazi bwammwe. Olwo nno munaabeeranga mu nsi, Mukama Katonda wammwe gye yalayirira okuwa bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo.” Musa n'ayongera okutegeeza Abayisirayeli bonna ebigambo ebyo. N'abagamba nti: “Olwaleero mpezezza emyaka kikumi mu abiri. Sikyayinza kuba mukulembeze wammwe, era Mukama yaŋŋamba nti: ‘Tojja kusomoka Mugga guno Yorudaani.’ Mukama Katonda wammwe ye alibakulemberamu okusomoka, n'azikiriza, nga mulaba, ab'amawanga agaliyo, ne mwefuga ensi yaabwe. Era Yoswa ye alibakulembera okusomoka, nga Mukama bwe yagamba. Mukama aliwangula abantu abo nga bwe yawangula Sihoni ne Ogi, bakabaka b'Abaamori, be yazikiriza n'ensi yaabwe. Mukama aliwaayo abantu abo mu mikono gyammwe, ne mubakolako nga bwe mbalagidde. Mube bagumu era bamalirivu. Temubatya, era tebabatekemula. Mukama Katonda wammwe yennyini ye aligenda nammwe. Talibalekerera, era talibaabulira mmwe.” Awo Musa n'ayita Yoswa, n'amugambira mu maaso g'Abayisirayeli bonna nti: “Beera mugumu era mumalirivu. Ggwe ojja okukulembera abantu bano okugenda okwefuga ensi Mukama gye yalayira okuwa bajjajjaabwe. Era Mukama yennyini, omukulembeze wammwe, anaabeeranga naawe. Taakulekererenga, era taakwabulirenga. Totya era totekemuka.” Awo Musa n'awandiika Amateeka ago, n'agakwasa bakabona Abaleevi, abaasitulanga Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, era n'abakulembeze bonna aba Yisirayeli. Musa n'abalagira nti: “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo okusonyiyirangamu amabanja, ku Mbaga ey'Ensiisira, ng'Abayisirayeli bonna bazze okusinza Mukama Katonda wammwe, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, munaasomeranga Amateeka gano mu maaso g'Abayisirayeli bonna bawulire. Munaakuŋŋaanyanga abantu bonna, abasajja n'abakazi n'abaana abato, n'abagwira ababeera mu bibuga byammwe, bawulire era bayige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, n'okukwatanga Amateeka gano gonna, bagatuukirizenga, era abaana baabwe abatannagayiga bawulire, bayige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna ze mulibeera mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani.” Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano osigazzaayo ennaku ntono ofe. Yita Yoswa, mweyanjule mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, ndyoke mmulagire.” Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Nga bali eyo, Mukama n'abalabikira mu mpagi ey'ekire. Empagi eyo n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'Eweema. Mukama n'agamba Musa nti: “Onootera okufa weegatte ku bajjajjaabo. Abantu bano tebaliba beesigwa gye ndi era balimenya endagaano gye nakola nabo. Balindekawo ne basinza balubaale b'omu nsi gye bagenda okubeerangamu. Ndibasunguwalira mu kiseera ekyo. Ndibaabulira ne mbeekweka, ne bazikirizibwa. Balituukibwako ebizibu n'okubonaabona okungi. Olwo balitegeera ng'ebizibu ebyo bibatuuseeko kubanga Nze Katonda waabwe sikyali wamu nabo. Era sirirema kubeekwekera ddala olw'ebibi byonna bye baliba bakoze, kubanga baliba bakyuse ne basinza balubaale. “Kale kaakano, ggwe wennyini wandiika oluyimba luno, era oluyigirize Abayisirayeli, olubayimbise. Oluyimba luno lwe lunaabanga omujulizi wange alumiriza Abayisirayeli abo, kubanga kaakano ŋŋenda okubayingiza mu nsi engimu era engagga, gye nalayirira bajjajjaabwe. Naye bwe balimala okulya ne bakkuta, ne bagejja, balikyukira balubaale ne babaweereza, ne banyooma nze, ne bamenya endagaano yange. Ekiseera bwe kirituuka ne batuukibwako akabi n'okubonaabona okungi, oluyimba luno lunaayimbibwanga, ne luba omujulizi abalumiriza, kubanga ne bazzukulu baabwe tebaalwerabirenga. Ne kaakano, nga sinnabatwala mu nsi gye nneerayirira okubawa, mmanyi kye balowooza okukola.” Awo Musa n'awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza Abayisirayeli. Awo Mukama n'ayogera ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'amugamba nti: “Beera mugumu, era mumalirivu, kubanga ggwe olituusa Abayisirayeli mu nsi gye nabalayirira, era nze nnaabeeranga wamu naawe.” Awo Musa bwe yamala okuwandiika mu kitabo ebigambo by'Amateeka gano n'okubimalirayo ddala obutalekaayo na kimu, n'alagira Abaleevi abaasitulanga Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'agamba nti: “Mutwale ekitabo kino eky'Amateeka, mukiteeke ku mabbali g'Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga eyo, nga bwe bujulizi obulumiriza abantu be. Mmanyi nga bwe bali abajeemu era abakakanyavu, kubanga ne leero nga nkyali mulamu, nga ndi wamu nabo, babadde bajeemera Mukama. Kale tebalyeyongera nnyo okumujeemera nga mmaze okufa? Mumpitire abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakulembeze bammwe, bakuŋŋaane, ndyoke njogere ebigambo bino nga bawulira, nkoowoole eggulu n'ensi, bibe abajulizi ababalumiriza, kubanga mmanyi nga bwe ndimala okufa, balyefuulira ddala babi, ne bagaana okukola bye mbalagidde. Era gye bujja, balituukibwako ebizibu, kubanga baliba basunguwazizza Mukama nga bakola by'alaba nga bibi.” Musa n'ayogera ebigambo by'oluyimba luno byonna, ng'ekibiina ky'Abayisirayeli kyonna kiwulira. “Ggwe ggulu, ntegera amatu njogere, naawe ensi, wuliriza bye ŋŋamba. Bye njigiriza bibe ng'enkuba etonnya, bye njogera bigwe ng'omusulo, ng'olukubakuba ku bimera ebigonvu, ng'oluwandaggirize ku muddo omuto. Nja kutenda erinnya lya Mukama, njatule nga Katonda waffe bw'ali Omukulu. “Ye w'amaanyi atutaasa, era akola ebituukiridde, asalawo obulungi ensonga. Katonda mwesigwa, wa mazima, akola ebituufu eby'obwenkanya. Naye abantu be boonoonyi, era tebasaanidde kuba babe. Bafuuse ggwanga kkakanyavu, eryakyama. Bwe mutyo bwe muyisa Mukama, mmwe abantu abatalina magezi? Si ye kitammwe eyabateekawo? Si ye yabafuula eggwanga? “Mujjukire ebiseera eby'edda, mulowooze emyaka gy'emirembe emingi. Mubuuze bakitammwe babalage, bajjajjammwe bababuulire ebyabaawo. Atenkanika bwe yagabira amawanga ebyago, bwe yayawulamu abantu. Yabateerawo ensalo zaabwe ng'agoberera omuwendo gw'abaana ba Katonda. Aba Yakobo yabafuula babe, gwe mugabo ogugwe ku bubwe. “Yabasanga babungeetera mu ddungu ekkalu kibuyaga mw'akuntira, n'abakuuma n'abalabirira, ng'omuntu bw'alabirira emmunye y'eriiso lye. Ng'empungu bw'eyaliirira ekisu kyayo, n'epapalira awali abaana baayo, n'ebatwalira ku biwaawaatiro byayo, ne Mukama bwe yabawanirira obutagwa. Mukama yekka ye yabakulembera. Tewali lubaale yamukwatirako. “Yabawa okubeera mu nsi ey'ensozi, ne balya emmere erimiddwa mu nnimiro. Baasanga omubisi gw'enjuki mu njazi, ettaka ery'oluyinjayinja ne libaza emizayiti gyabwe. Ente zaabawa omuzigo, era baakama amata mu mbuzi zaabwe. Ne bazaaza endiga engevvu, ne bafuna eŋŋaano ennungi. Ne beesogoleranga omwenge ogw'emizabbibu omuwoomu omuka. “Abayisirayeli ne bagaggawala, naye ne bajeema. Baagejjuka, emmere n'ebazimbulula. Ne bava ku Mutonzi waabwe, ne banyooma ow'amaanyi, omulokozi waabwe. Baasenga balubaale, ne bamukwasa obuggya. Baakola ebyenyinyalwa, ne bamusunguwaza. Baatambirira balubaale, sso si Katonda; balubaale abatamanyiddwa, balubaale abaggya, abataasinzibwanga bajjajjaabwe. Beerabira Omuyinza eyabatonda, tebajjukira Katonda eyabawa obulamu. “Mukama bwe yakiraba n'asunguwala. N'atamwa batabani be ne bawala be. N'agamba nti: ‘Nja kubeekweka, ndabe enkomerero yaabwe. Bafuuse zzadde bbi, baana abatalina kukkiriza. Bankwasizza obuggya nga beewa ebitali Nze Katonda. Bansunguwazizza, nga beesiga ebitaliimu. Nange ndibakwasa obuggya, nga nnumirwa abatali bantu bange. Ndibasunguwaza nga ŋŋanza eggwanga ly'abatalina magezi. Obusungu bwange bukoledde ng'omuliro okwokya buli ekiri ku nsi. Bunaayaka okutuuka emagombe wansi eyo, bwokye emisingi gy'ensozi. “ ‘Ndibatuusaako akabi aka buli ngeri. Ndimalira obusaale bwange ku bo. Banaafanga enjala n'omusujja, bazikirizibwe endwadde ez'akabi. Ndisindika ensolo enkambwe zibalye, N'emisota egy'obusagwa gibabojje. Entalo ebweru n'ekikangabwa mu nnyumba, binattanga abalenzi n'abawala, omukadde ow'envi n'omuto ayonka. Nagamba nti: Ka mbasaasaanye ewala, wabulirewo ddala abajjukira. Naye ne neekengera okwewaana kw'abalabe: ababakyawa baleme kwerimba nga bagamba nti: Olw'amaanyi gaffe ffe tubawangudde, sso Mukama si ye akoze bino byonna.’ “Yisirayeli lye ggwanga ly'abatayagala kubuulirirwa. Temuli bategeera mu bo. Singa balina amagezi banditegedde ekibaleetedde okuwangulwa abalabe. Omu yandigobye atya olukumi, n'ababiri ne baddusa omutwalo, singa ow'amaanyi abakuuma teyabawaayo, singa Mukama teyabaabulira? Balubaale b'abalabe banafu, naye Katonda waffe wa maanyi, n'abalabe baffe bennyini ekyo bakimanyi. Boonoonyi ng'ab'e Sodoma ne Gomora. Bali ng'ennimiro z'emizabbibu egibala emizabbibu egy'obutwa, nga n'ebirimba byagyo bikaawa. Omwenge gwagyo guli nga busagwa bwa misota, bukambwe nga bwa mbalasaasa. “Mukama ajjukira abalabe baabwe kye bakoze. Alinda ekiseera ky'ategese, alyoke abonereze abalabe abo. Mukama ye awoolera eggwanga, era ye asasula. Obudde bujja kutuuka bagwe, kubanga ekiseera kyabwe eky'okubonaabona kiri kumpi, n'eby'okubajjira byanguwako. Mukama alisalawo nti abantu be, be basinze omusango. Abaweereza be alibakwatirwa ekisa, bw'aliraba nga bonna baweddemu amaanyi, ng'omusibe n'ow'eddembe tewakyali agalina. Olwo abantu be alibabuuza nti: ‘Balubaale bali ludda wa, ab'amaanyi be mwesiganga? Baalyanga amasavu ag'ebitambiro byammwe, ne banywa omwenge ogw'emizabbibu gwe mwabatoneranga banywe. Bajje kaakano babayambe, babe obuwonero bwammwe. “ ‘Kaakano mumanye nga Nze era nzekka Nze wuuyo. Tewali Katonda mulala wabula Nze. Nze nzita, era Nze mpa obulamu. Nfumita era ne mponya. Tewali ayinza kunzigyako kiri mu buyinza bwange. Ngolola omukono gwange eri eggulu ne ŋŋamba nti: Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna, ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa, nze Omuyinza ne nkozesa obwenkanya. Ndiwoolera eggwanga ku balabe bange, ne mbonereza abankyawa. Obusaale bwange bulijjula omusaayi, n'ekitala kyange kirirya ennyama awamu n'omusaayi ogw'abattiddwa n'abawambiddwa, n'emitwe gy'abakulembeze b'abalabe.’ “Mmwe amawanga mutendereze abantu ba Mukama, kubanga aliwoolera eggwanga ku abo abatta abaweereza be, n'akwatirwa ekisa ensi ye n'abantu be.” Bw'atyo Musa bwe yajja ne Hoseya mutabani wa Nuuni, ne boogera ebigambo by'oluyimba olwo byonna, ng'abantu bawulira. Musa bwe yamala okwogera n'Abayisirayeli ebigambo ebyo byonna, n'agamba nti: “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye mbategeezezza olwaleero. Mubiyigirize abaana bammwe, bafengayo okutuukiriza byonna ebiragirwa mu mateeka gano, kubanga bino si bigambo bya kusaaga, naye bya bulamu bwammwe bwennyini, era bye biribawangaaliza mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani.” Awo Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti: “Yambuka mu nsozi z'e Abariimu mu nsi y'e Mowaabu, eyolekedde ekibuga Yeriko, oyambuke ku Lusozi Nebo, olengere ensi y'e Kanaani, gye mpa Abayisirayeli ebe obutaka bwabwe, ofiire ku lusozi olwo, weegatte ku bajjajjaabo, nga muganda wo Arooni bwe yafiira ku Lusozi Hori, ne yeegatta ku bajjajjaabe, kubanga mmwe mwembi mwasobya ne munnyiiriza mu Bayisirayeli. Bwe mwali ku mazzi g'e Meriba ku Kadesi, mu ddungu ly'e Ziini, temwanzisaamu kitiibwa. Ojja kulengera bulengezi ensi gye mpa Abayisirayeli, naye tojja kugiyingiramu.” Guno gwe mukisa, Musa omusajja wa Katonda, gwe yasabira Abayisirayeli nga tannaba kufa. Yagamba nti: “Mukama yava ku Lusozi Sinaayi, n'avaayo ng'enjuba ku Seyiri, n'ayaka ng'asinziira ku Lusozi Parani, ng'ali wamu n'obukumi bw'abatuukirivu, n'omuliro ogwaka nga gumuli ku ludda lwe olwa ddyo. Weewaawo ayagala abantu be. Abaamwawulirwa bali mu mikono gye. Batuula kumpi n'ebigere bye okuwulira ebigambo bye. Musa yatuwa Amateeka kye ky'omuwendo ennyo eky'eggwanga lya Yakobo. Mukama yafuuka Kabaka w'Abayisirayeli, ebika byabwe n'abakulembeze baabwe bwe baakuŋŋaana.” Musa n'ayogera ku ba Rewubeeni nti: “Aba Rewubeeni babe balamu baleme kufa kuggwaawo, era beeyongere obungi.” N'ayogera ku ba Yuda nti: “Wulira ayi Mukama omulanga gwa Yuda, omukomyewo mu baganda be. Omulwanirire, omuyambe okumuwonya abalabe be.” Ku Baleevi n'agamba nti: “Turimu wo ne Wurimu wo biwe basajja bo abakussaamu ekitiibwa, be wagereza e Massa. Wawakana nabo ku mazzi g'e Meriba. Abaleevi baanywerera ku ggwe okusinga ku bazadde baabwe, ne ku baganda baabwe, ne ku baana baabwe. Baawulira ebiragiro byo, ne bakuuma endagaano yo. Banaayigirizanga aba Yakobo ebiragiro byo n'amateeka go. Banaayoterezanga obubaane w'oli. Banaawangayo ebitambiro ebyokebwa nga biramba ku alutaari yo. Ebyabwe, ayi Mukama, obiwenga omukisa. Osanyukirenga bye bakola. Betenteranga ddala abalabe baabwe, abo ababakyawa balemenga kuddamu kusituka.” Ku Babenyamiini n'agamba nti: “Bano mikwano gya Mukama. Banaabeeranga mirembe w'ali. Anaabakuumanga ekiseera kyonna, era anaabeeranga mu bo.” Ku ba Yosefu n'agamba nti: “Ensi yaabwe, Mukama agiwe omukisa, ogw'ebirungi ebiva waggulu mu bire, n'ogw'ebiva mu ttaka wansi. Ensi yaabwe ebeemu ebibala ebyengezebwa enjuba, era ebirungi mu buli makungula. Ebe n'eby'omuwendo ennyo ebiva mu nsozi ez'edda, n'ebirungi ebiva mu busozi obutaggwaawo. Ensi yaabwe ejjule ebirungi byonna ebiweereddwa omukisa gwa Mukama, eyayogera ng'asinziira mu kisaka ekyaka omuliro. Emikisa gino gijje ku ba Yosefu, kubanga Yosefu ye yali omukulembeze mu baganda be. Yosefu alina amaanyi ng'ag'ente ennume, n'amayembe ng'ag'embogo. Amayembe ago, gye mitwalo gya Bamanasse, gye mitwalo n'emitwalo gy'Abeefurayimu. Aligatomeza amawanga agasindiikirize, agatuuse ensi gy'ekoma.” Ku Zebbulooni ne ku Yissakaari n'agamba nti: “Mmwe Abazebbulooni, musanyuke nga muli mu ŋŋendo zammwe, nammwe Abayissakaari, nga muli awaka. Baliyita ab'amawanga amalala ku lusozi lwabwe, ne baweerangayo eyo ebitambiro ebituufu. Banaafunanga ebyobugagga mu nnyanja, ne mu musenyu ku lubalama.” Ku Kika kya Gaadi n'agamba nti: “Aweebwe omukisa agaziya ensi ya Gaadi. Gaadi abwama ng'empologoma, okutaagula omukono n'akawompo k'omu mutwe. Yatwala ekitundu ekirungi okusinga ebirala, kubanga eyo ye waateekebwa omugabo gw'omukulembeze. Yajja n'abakulembeze b'abantu, n'atuukiriza ebiragiro bya Mukama, n'amateeka ge yawa Yisirayeli.” Ne ku Kika kya Daani n'agamba nti: “Daani mwana gwa mpologoma, ogukyayonka. Abuuka okuva mu Basani.” Ku Kika kya Nafutaali n'agamba nti: “Ggwe Nafutaali, Mukama ow'ekisa akuwadde nnyo omukisa. Funa ensi ey'ebugwanjuba n'ey'omu bukiikaddyo.” Ku Kika kya Aseri n'agamba nti: “Aseri afune omukisa ogusinga ku gwa banne. Ayagalibwenga baganda be. Ensi ye eyazenga omuzigo ogw'emizayiti. Ebibuga bye biggalwenga enzigi ez'ekyuma n'ez'ekikomo. Abenga wa maanyi obulamu bwe bwonna.” Mmwe Abayisirayeli, teri n'omu ali nga Katonda eyeebagala ku ggulu n'ayita mu bbanga. Ng'ali mu kitiibwa ekingi, n'ajja okubayamba. Katonda ataggwaawo ye abataasa mmwe. Emikono gye egy'olubeerera gye gibawanirira. Anaagobanga abalabe bammwe mu nsi nga mutuuka, mmwe n'abagamba nti: “Mubazikirize.” Kale Abayisirayeli banaabeeranga mirembe, bazzukulu ba Yakobo banaabeeranga bokka mu nsi omuli eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu, era efukirirwa omusulo oguva mu ggulu. Oli wa mukisa ggwe Yisirayeli! Ani ali nga ggwe, eggwanga erirokolebwa Mukama? Mukama ye ngabo yo n'ekitala kyo, ebikutaasa, era ebikuwa obuwanguzi. Abalabe bo balijja ne bakwemenyera, ggwe n'obalinnyako. Awo Musa n'ava mu nsenyi z'e Mowaabu, n'ayambuka ku Lusozi Nebo, entikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko. Mukama n'amulaga ensi eyo yonna ey'e Gileyaadi, okutuuka e Daani, n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali, n'ensi ya Efurayimu ne Manasse, n'ensi yonna eya Yuda, okutuuka ebugwanjuba ku Nnyanja Eyaawakati, n'ebukiikaddyo, n'olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko ekibuga ky'ensansa, okutuuka e Zowari. Mukama n'agamba Musa nti: “Eyo ye nsi gye nalayirira Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo nga ŋŋamba nti ndigiwa ezadde lyabwe. Ngikulengezezza bulengeza, naye tojja kusomoka kugendayo.” Awo Musa omuweereza wa Mukama n'afiira eyo mu nsi y'e Mowaabu, nga Mukama bwe yagamba. Mukama n'amuziika mu kiwonvu mu nsi y'e Mowaabu, okwolekera ekibuga Beti Pewori. Naye ne leero tewali amanyi kifo kyennyini we yaziikibwa. Musa we yafiira, yali awezezza emyaka kikumi mu abiri. Kyokka yali akyalaba bulungi era ng'akyali wa maanyi. Abayisirayeli ne bakaaba amaziga olwa Musa, okumala ennaku amakumi asatu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, olwo ekiseera eky'okukungubagiramu nga bakungubagira Musa, ne kiryoka kiggwaako. Yoswa mutabani wa Nuuni yali ajjudde amagezi, kubanga Musa yali amukakasizza okumusikira. Abayisirayeli ne bawuliranga Yoswa, ne bakolanga nga Mukama bwe yalagira Musa. Okuva olwo tewasibukangawo mulanzi mu Yisirayeli ali nga Musa, Mukama gwe yamanya, n'ayogeranga naye nga balabagana maaso na maaso. Tewali mulanzi mulala yakola byewuunyo na byamagero ng'ebyo Mukama bye yatuma Musa okukola ku kabaka w'e Misiri, ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna. Era tewali mulanzi mulala yakola bya maanyi ebyo byonna era eby'entiisa eyo yonna nga Musa bye yakola ng'Abayisirayeli bonna balaba. Awo olwatuuka, Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n'ayogera ne Yoswa, omuyambi wa Musa, era mutabani wa Nuuni, n'agamba nti: “Musa omuweereza wange afudde. Kale kaakano weetegeke, ggwe n'Abayisirayeli bonna, musomoke Omugga Yorudaani, muyingire mu nsi gye mbawa bo. Nga bwe nagamba Musa, mbawadde mmwe buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe. Ensalo yammwe eriva ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku Lusozi Lebanooni mu bukiikakkono, era eriva ku mugga omunene Ewufuraate mu buvanjuba, okuyita mu nsi y'Abahiiti, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba. Yoswa, tewaliba muntu n'omu aliyinza kukuwangula ennaku zonna ez'obulamu bwo. Nnaabeeranga naawe, nga bwe nabeeranga ne Musa. Siikwabulirenga era siikulekenga. Ddamu amaanyi, ogume omwoyo, kubanga ggwe olikulembera abantu bano nga bagenda okufuna ensi eno gye nasuubiza bajjajjaabwe okugibawa. Kale ddamu amaanyi, ogume omwoyo, era wekkaanye otuukirizenga amateeka gonna Musa omuweereza wange ge yakuwa. Togavangako n'akatono, lw'onooweebwanga omukisa buli gy'onoogendanga. Ekitabo kino eky'Amateeka okisomanga bulijjo, n'okyebuulirirangako emisana n'ekiro, olyoke weegenderezenga okutuukiriza byonna ebikiwandiikiddwamu. Lw'onooweebwanga omukisa n'owangula mu byonna. Manya nga nze nkulagidde okuddamu amaanyi n'okuguma omwoyo. Totya, era toterebukanga, kubanga nze, Mukama Katonda wo, ndi wamu naawe buli gy'onoogendanga yonna.” Awo Yoswa n'alagira abakulembeze okuyita mu lusiisira, bagambe abantu nti: “Mutegeke emmere yammwe, kubanga mu nnaku ssatu, mujja kusomoka Omugga Yorudaani, okuyingira mufune ensi Mukama, Katonda wamwe gy'abawa ebe eyammwe.” Yoswa n'agamba Ebika ekya Rewubeeni, n'ekya Gaadi, n'ekitundu eky'Ekika kya Manasse nti: “Mujjukire Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagamba nti Mukama, Katonda wammwe alibawa ensi eno ey'ebugwanjuba bw'Omugga Yorudaani, gye muba mutebenkeramu. Bakazi bammwe n'abaana bammwe abato balisigala wano wamu n'amagana gammwe, naye mu mmwe, abazira bonna ab'amaanyi, balisomoka nga balina ebyokulwanyisa, ne bakulemberamu baganda bammwe, okutuusa nabo lwe balimala okutebenkera mu nsi ey'ebugwanjuba bw'Omugga Yorudaani, Mukama, Katonda wammwe gy'aliwa bo. Olwo muliddayo ne mukkalira mu nsi gye mwafuna mu buvanjuba bw'Omugga Yorudaani, Musa omuweereza wa Mukama, gye yabawa.” Yoswa ne bamuddamu nti: “Byonna by'otulagidde tunaabikola, era tunaagendanga buli gy'onootutumanga. Tunaakuwuliranga mu byonna nga bwe twawuliranga Musa, era Mukama, Katonda wo abeere naawe nga bwe yali ne Musa. Buli anaajeemeranga ekiragiro kyo, n'atawulira bigambo byo, mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga. Ggwe ddamu amaanyi, era guma omwoyo.” Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n'atuma abakessi babiri okuva mu Sittimu, n'abagamba nti: “Mugende mwetegereze ensi y'e Kanaani, naddala Ekibuga Yeriko.” Ne bagenda. Bwe baatuuka mu kibuga, ne bayingira mu nnyumba ya malaaya, erinnya lye Rahabu, ne basulayo. Kabaka wa Yeriko n'awulira ng'abamu ku Bayisirayeli bazze ekiro okuketta ensi. N'atumira Rahabu nti: “Abantu abazze ne bayingira mu nnyumba yo, bazze kuketta nsi yaffe yonna. Baggyeeyo.” Kyokka omukazi n'abatwala bombi n'abakweka, n'agamba nti: “Weewaawo abantu bazze ewange. Naye nabadde simanyi gye bavudde. Awo obudde bwe bwabadde bukutte nga tebannaggalawo wankaaki wa kibuga, ne bagenda. Ssaategedde gye balaze. Naye singa mubawondera mangu, mujja kubakwata.” Naye yali abalinnyisizza mu kasolya n'abakweka mu miti gy'obugoogwa gye yali atereezezzaayo obulungi. Abaabawondera bwe baamala okuva mu kibuga, wankaaki waakyo n'aggalwawo. Ne bagenda nga banoonya Abayisirayeli abakessi, okutuuka awasomokerwa Yorudaani. Abakessi nga tebanneebaka, Rahabu n'alinnya gye bali mu kasolya. N'abagamba nti: “Mmanyi nga Mukama, ensi eno agibawadde. Abagirimu bonna bakwatiddwa entiisa ku lwammwe, kubanga twawulira Mukama nga bwe yakaliza mu maaso gammwe Ennyanja Emmyufu bwe mwava mu Misiri. Era twawulira kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abaamori, Sihoni ne Ogi, abaali emitala wa Yorudaani, be mwazikiririza ddala. Bwe twakiwulira, ne tutya, era ffenna mwatumalamu dda amaanyi, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye Katonda ali waggulu mu ggulu, ne wansi ku nsi. Kale kaakano mundayirire Mukama oyo, ng'amaka ga kitange munaagakwatirwa ekisa nga nange bwe nkibakwatiddwa mmwe, era mumpe akabonero akanankakasa obwesigwa bwammwe. Munkakase nga munaawonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange n'ebyabwe byonna, ne mutatuleka kuttibwa.” Abasajja ne bagamba nti: “Tulikuuma obulamu bwammwe nammwe bwe munaakuuma obwaffe. Bwe mutaayogere bino bye tubadde tukola, Mukama bw'alituwa ensi eno, naffe tulikulaga ekisa n'amazima.” Rahabu yasulanga ku bbugwe wa kibuga, kubanga ennyumba ye kwe yazimbirwa. N'akozesa omuguwa n'abayamba okukka ng'abayisa mu ddirisa. N'abagamba nti: “Mulage mu nsozi, ababawondera baleme kubasanga. Mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa lwe banaakomawo. Oluvannyuma muliyinza okugenda.” Abasajja ne bamugamba nti: “Tetulimenya kirayiro kino ky'otulayizza. Olikola bw'oti: bwe tulirumba ensi yammwe eno, olisiba akaguwa kano akamyufu ku ddirisa ly'otuyisizzaamu. Era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko ne baganda bo, n'ab'omu nnyumba ya kitaawo bonna. Bwe walibaawo afuluma ennyumba yo n'adda mu luguudo, ye aliba yeereetedde yekka okuttibwa, si ffe tulivunaanibwa. Naye buli alibeera naawe mu nnyumba, n'atuukibwako akabi, oyo gwe tulivunaanibwa. Wabula bw'olibuulirako omuntu yenna ku bino bye tukola, tuliba tetukyasibibwa kirayiro kyo kino ky'otulayizza.” Rahabu n'akkiriza, n'abasiibula ne bagenda, n'asiba akaguwa akamyufu ku ddirisa. Abakessi ne bagenda ne beekweka mu nsozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabawondera lwe baakomawo mu Yeriko nga bamaze okubanoonya wonna ne batabalaba. Awo abakessi bombi ne bavaayo mu nsozi ne basomoka Yorudaani, ne baddayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni, ne bamubuulira byonna ebyabatuukako. Awo ne bamugamba nti: “Ddala Mukama ensi eno yonna agituwadde. Abantu bonna abagirimu batutidde.” Ku lunaku olwaddirira, Yoswa n'Abayisirayeli baakeera mu makya, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yorudaani, ne basiisira awo nga tebannasomoka. Bwe waayitawo ennaku ssatu, abakulembeze ne bayitaayita mu lusiisira, ne bagamba abantu nti: “Bwe munaalaba Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, Katonda wammwe, nga bakabona Abaleevi bagyetisse, ne mulyoka muva mu bifo byammwe, ne mugigoberera, mulyoke mumanye ekkubo lye mugwanidde okukwata, kubanga ekkubo lino mubadde temuliyitangamu. Naye Essanduuko ey'Endagaano temugisemberera. Munaalekawo ebbanga lya kilomita ng'emu wakati wammwe nayo.” Yoswa n'agamba abantu nti: “Mwetukuze, kubanga enkya, Mukama ajja kukola ebyamagero mu mmwe.” Awo n'agamba bakabona nti: “Musitule Essanduuko ey'Endagaano, mukulemberemu abantu.” Ne bagisitula, ne bakulemberamu. Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Kye nnaakola olwaleero, kinaaleetera Abayisirayeli bonna okutandika okukussaamu ekitiibwa, n'okukumanya nga ndi naawe, nga bwe nali ne Musa. Lagira bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano nti bwe batuuka mu mazzi g'Omugga Yorudaani, basigale nga bagayimiriddemu.” Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Mujje wano muwulire Mukama, Katonda wammwe by'agamba. Ku kino kwe munaategeerera nga Katonda Nnnannyinibulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba Bakanaani na Bahiiti na Bahiivi na Baperezi, na Bagirugaasi, na Baamori, na Bayebusi mmwe nga mulaba. Mulabe, Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama w'ensi zonna ebakulembeddemu okusomoka Yorudaani. Kale kaakano mulonde abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika kya Yisirayeli. Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama bwe banaalinnya mu mazzi, Omugga Yorudaani gujja kulekera awo okukulukuta, amazzi agava engulu, geetuume wamu entuumu.” Abantu bwe baava mu weema zaabwe okusomoka Yorudaani, bakabona ne babakulemberamu nga basitudde Essanduuko ey'Endagaano. Bakabona abo abasitudde Essanduuko bwe baatuuka ku Yorudaani, ne balinnya mu mazzi gaagwo agaali gaaladde ku mbalama zaagwo zonna mu biseera byonna ebyo eby'amakungula, amazzi agava engulu ne galekera awo okukulukuta, ne geetuuma wamu entuumu, ebbanga ddene, okuviira ddala ku Adamu ekibuga ekiriraanye Zaretaani. Ago agakkirira ku Nnyanja ey'e Araba, ye Nnyanja ey'Omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera okumpi ne Yeriko. Abayisirayeli bonna ne bayita awakalu, nga bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano bayimiridde awakalu wakati mu Mugga Yorudaani, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyamala okusomoka. Eggwanga lyonna bwe lyamala okusomoka Yorudaani, Mukama n'agamba Yoswa nti: “Mulonde mu bantu abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika, era mu balagire balonde amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudaani, mu kifo wennyini bakabona mwe baayimiridde, bagatwale bagateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kino.” Awo Yoswa n'ayita abasajja ekkumi n'ababiri be yalonda mu Bayisirayeli, omu omu okuva mu buli kika, n'abagamba nti: “Mutambule mutuuke wakati mu Yorudaani awali Essanduuko ya Mukama, Katonda wammwe. Buli omu ku mmwe asitule ejjinja, alisse ku kibegabega kye, buli kika kya Yisirayeli ejjinja limu. Amayinja ago ganajjukizanga abantu, ekyo Mukama ky'akoze. Mu biseera ebigenda okujja, abaana bammwe bwe banaababuuzanga amayinja ago kye gategeeza, munaabagambanga nti amazzi ga Yorudaani gavaawo ne gaviira Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yali ng'eyita mu Yorudaani. Amayinja gano ganajjukizanga bulijjo Abayisirayeli ebyo ebibaddewo.” Abayisirayeli ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira. Ne balonda amayinja kkumi n'abiri mu makkati ga Yorudaani, limu limu erya buli kika kya Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ne bagatwala mu kifo mwe baasula, ne bagateeka eyo. Ne Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri mu Yorudaani wakati, mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey'Endagaano mwe baayimirira. Amayinja ago gakyaliwo ne kaakano. Bakabona abaasitula Essanduuko baayimirira mu Yorudaani wakati, okutuusa byonna Mukama bye yalagira Yoswa okubuulira abantu lwe byatuukirira, nga Musa bwe yali alagidde Yoswa. Abantu ne banguwako okusomoka. Awo abantu bonna bwe baamala okusomoka, bakabona abaali n'Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano ne bakulemberamu abantu. Ab'omu Kika kya Rewubeeni n'ab'omu kya Gaadi, n'ab'ekimu ekyokubiri eky'ab'omu Kika kya Manasse ne bakulemberamu Abayisirayeli abalala, nga balina ebyokulwanyisa, nga Musa bwe yali abagambye. Abantu ng'emitwalo ena abeeteeseteese okulwana olutalo ne bayita mu maaso ga Mukama mu lusenyi olw'e Yeriko. Mukama bye yakola ku lunaku olwo ne bireetera Abayisirayeli okumanya nga Yoswa muntu mukulu. Ne bamussangamu ekitiibwa ennaku zonna ez'obulamu bwe, nga bwe baakissangamu Musa. Awo Mukama n'agamba Yoswa alagire bakabona abasitudde Essanduuko, bambuke bave mu Yorudaani. Awo Yoswa n'abalagira nti: “Mwambuke, muve mu Yorudaani.” Awo bakabona abaasitula Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bwe baayambuka ne bava mu Yorudaani, ne balinnya ku lukalu, amazzi gaagwo ne gaddamu okukulukuta n'okwanjaala ku mbalama zaagwo, ng'edda. Abantu baasomoka Yorudaani ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'olubereberye, ne basula e Gilugaali mu buvanjuba bwa Yeriko. Eyo Yoswa gye yasimba amayinja ekkumi n'abiri ge baggya mu Yorudaani. N'agamba Abayisirayeli nti: “Mu biseera ebijja abaana bammwe bwe banaababuuzanga amayinja gano kye gategeeza, munaabagambanga nti: ‘Abayisirayeli baasomoka Omugga Yorudaani guno nga mukalu.’ Munaabategeezanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yakaliza amazzi ga Yorudaani, okutuusa lwe mwamala okusomoka, nga bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu nga mugisomoka. Olwa kino, ab'amawanga gonna ku nsi balimanya obuyinza bwa Mukama nga bwe buli obw'amaanyi, era mulissaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna.” Awo bakabaka bonna ab'Abaamori abaali ku ludda lwa Yorudaani olw'ebugwanjuba ne bakabaka ab'Abakanaani abaali ku lubalama lw'Ennyanja Eyaawakati, bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi ga Yorudaani okutuusa Abayisirayeli lwe baamala okusomoka, ne batya nnyo, ne baggwaamu amaanyi olw'Abayisirayeli. Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Kola obwambe obw'amayinja, okomole Abayisirayeli abo abatakomolebwanga.” Yoswa n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'akomola Abayisirayeli ku lusozi oluyitibwa olw'Okukomola. Batabani ba bano tebaali bakomole. Abo Yoswa be yakomola. Okukomolebwa bwe kwaggwa, eggwanga lyonna ne lisigala mu lusiisira, abakomole ne bamala okuwona. Mukama n'agamba Yoswa nti: “Olwaleero mbaggyeeko okuswala kwe mwalimu e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Gilugaali ne kaakano. Abayisirayeli bwe baali bakyasiisidde e Gilugaali mu lusenyi olw'e Yeriko, ne balya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, mu kawungeezi k'olunaku lw'omwezi olw'ekkumi n'ennya. Olunaku olwaddirira, lwe baasookerako okulya emmere gye baalima mu nsi y'e Kanaani: emmere ey'empeke ensiike n'emigaati egitazimbulukusiddwa. Olwo ne mannu n'erekera awo okugwa, Abayisirayeli ne bataddayo kugifuna. Okuva olwo ne balyanga emmere erimwa mu nsi y'e Kanaani. Yoswa bwe yali okumpi ne Yeriko, n'alaba omusajja ayimiridde mu maaso ge, ng'akutte ekitala ekisowole. Yoswa n'amusemberera, n'amubuuza nti: “Oli omu ku ffe oba oli omu ku balabe baffe?” Oli n'addamu nti: “Nedda; naye nze mukulu w'eggye lya Mukama. Kaakano ntuuse.” Yoswa n'avuunama mu maaso ge n'asinza. N'agamba nti: “Mukama wange, ndi muweereza wo, kiki ky'oyagala nkole?” Omukulu w'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti: “Yambulamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu.” Yoswa n'akola bw'atyo. Enzigi za Yeriko zaali ziggaliddwawo ddala, olw'okwerinda Abayisirayeli, nga tewali n'omu ayingira, wadde afuluma. Mukama n'agamba Yoswa nti: “Ntadde mu mikono gyo ekibuga Yeriko ne kabaka waamu, n'abalwanyi ab'amaanyi. Ggwe n'abalwanyi bo, mujja kutambula mukyetooloole omulundi gumu buli lunaku, okumala ennaku mukaaga. Bakabona musanvu, nga buli omu akutte eŋŋombe ey'ejjembe ly'endiga ennume, bajja kukulemberamu Essanduuko ey'Endagaano. Ku lunaku olw'omusanvu mulitambula okwetooloola ekibuga emirundi musanvu, nga bakabona bafuuwa eŋŋombe. Awo balifuuwa nnyo eŋŋombe. Bwe muliwulira eddoboozi ly'eŋŋombe, abantu bonna ne baleekaana mu maloboozi ag'omwanguka, ekisenge ky'ekibuga ne kiryoka kigwa. Olwo eggye lyonna ne liyingira butereevu mu kibuga.” Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n'ayita bakabona n'abagamba nti: “Musitule Essanduuko ey'Endagaano, era musanvu ku mmwe bagikulemberemu nga bakutte eŋŋombe ez'amayembe g'endiga ennume.” Awo n'agamba basajja be nti: “Mutambule, mwetooloole ekibuga. Abalina ebyokulwanyisa bakulemberemu Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano.” Awo Yoswa bwe yamala okulagira bw'atyo abantu, bakabona omusanvu abakutte eŋŋombe omusanvu ez'amayembe g'endiga ennume nga bali mu maaso ga Mukama, ne bagenda nga bafuuwa eŋŋombe, nga bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bavaako emabega. Abaalina ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona abafuuwa eŋŋombe. Olwo abaali bakoobera emabega ne bagoberera Essanduuko, ne bafuuwa eŋŋombe nga batambula. Kyokka Yoswa yali alagidde basajja be nti: “Temuleekaana era temubaako kye mwogera, wadde okuwuliza eddoboozi lyammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira, olwo ne mulyoka muleekaana.” Awo n'abalagira okutwala Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bagyetoolooze ekibuga omulundi gumu. Olwo ne badda mu lusiisira ne basula omwo. Yoswa n'azuukuka ku makya ku lunaku olwaddirira. Ne bakabona omusanvu abakutte eŋŋombe omusanvu ez'amayembe g'endiga ennume, ne bakulemberamu Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, ne bagenda nga bafuuwa eŋŋombe obutasalako. Abalwanyi abalina ebyokulwanyisa ne bakulemberamu. Abavaako emabega ne batambulira emabega w'Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano. Ebbanga lyonna ng'eŋŋombe zivuga. Ne ku lunaku olwokubiri, ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Baakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera nkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga mu ngeri ye emu. Naye ku lunaku olwo ne bakyetooloola emirundi musanvu. Ku mulundi ogw'omusanvu bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba basajja be nti: “Muleekaane, kubanga ekibuga Mukama akibawadde! Ekibuga n'ebikirimu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe. Rahabu malaaya n'ab'omu nnyumba ye be bokka ab'okutalizibwawo, kubanga yakweka abakessi be twatuma. Naye mwewalire ddala okubaako kye mutwala ku by'okuzikiriza. Bwe munaatwalako, mujja kuleetera olusiisira lw'Abayisirayeli emitawaana n'okuzikirizibwa. Naye ebintu byonna ebya ffeeza, n'ebya zaabu, n'eby'ekikomo, n'eby'ekyuma, byawuliddwa Mukama, bya kutwalibwa mu ggwanika lya Mukama.” Awo bakabona ne bafuuwa eŋŋombe. Abasajja bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, ne baleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka, ekisenge ekyetoolodde ekibuga ne kigwa wansi. Awo eggye lyonna ne lyambuka mu kibuga, buli omu ng'agenda butereevu mu maaso ge, ekibuga ne bakiwamba. Ne batta bonna abaali mu kibuga, abasajja n'abakazi, abato era n'abakulu, awamu n'ente, n'endiga n'endogoyi. Abasajja ababiri abaakola ogw'obukessi, Yoswa n'abagamba nti: “Mugende mu nnyumba y'omukazi malaaya mumufulumye, ye n'ab'omu nnyumba ye bonna nga bwe mwamulayirira.” Abavubuka abakessi ne bayingira ne bafulumya Rahabu, wamu ne kitaawe ne nnyina ne baganda be, era n'abantu be abalala bonna, n'ebibye byonna, ne babaleeta, ne babateeka kumpi n'olusiisira lw'Abayisirayeli. Awo ekibuga ne bakyokya omuliro, n'ebyalimu byonna. Naye ffeeza ne zaabu n'ebintu eby'ekikomo n'eby'ekyuma ne babitwala mu ggwanika lya Mukama. Kyokka Yoswa n'awonya obulamu bwa Rahabu malaaya, n'obw'ab'omu nnyumba ya kitaawe wa Rahabu oyo, n'obwa bonna be yalina, kubanga Rahabu oyo yakweka abakessi, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko. Bazzukulu ba Rahabu bakyali mu Yisirayeli ne kaakano. Mu biro ebyo, Yoswa n'ayisa ekirangiriro eky'amaanyi ekigamba nti: “Buli agezaako okuzimba obuggya ekibuga kino Yeriko, akolimirwe mu maaso ga Mukama. Buli alissaawo omusingi gwakyo, alifiirwa omwana we omuggulanda. Buli aliwangamu enzigi zaakyo, alifiirwa omwana we omuggalanda.” Bw'atyo Mukama n'abeera ne Yoswa, ettutumu lye ne libuna mu nsi eyo yonna. Naye Abayisirayeli ne batakuuma kiragiro kya Mukama eky'obutatwala ku bintu ebyali eby'okuzikiriza. Akani mutabani wa Karumi era muzzukulu wa Zabudi era owa Zeera ow'omu Kika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyo, Mukama n'asunguwalira Abayisirayeli. Yoswa n'atuma abantu okuva e Yeriko okugenda e Ayi, ekibuga ekiri ebuvanjuba bwa Beteli, okumpi ne Betaveni, n'abagamba bagende bakette ekitundu ekyo. Ne bagenda ne baketta Ayi. Ne bakomawo eri Yoswa ne bamugamba nti: “Tekyetaagisa bantu bonna kugenda, naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu bambukeyo balumbe Ayi. Tosindikayo ggye lyonna kulwana, kubanga abaayo batono.” Awo Abayisirayeli ng'enkumi ssatu ne bambukayo, naye ab'e Ayi ne babazzaayo emabega, ne babagoba okubaggya ku mulyango gw'ekibuga okubatuusa ku birombe by'amayinja, ne babattamu abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga ku kaserengeto. Abayisirayeli ne baggwaamu amaanyi, ne batya. Yoswa n'abakulembeze mu Bayisirayeli ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala. Ne beevuunika ku ttaka mu maaso g'Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, okutuusa akawungeezi, nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe. Yoswa n'agamba nti: “Kino nga kitalo, ayi Mukama Katonda! Lwaki wasomosa abantu bano Omugga Yorudaani? Wayagala kutuwaayo eri Abaamori batuzingize? Kale nno singa twamatira ne tusigala ku ludda luli olwa Yorudaani! Ayi Mukama, nnaayogera ki ng'Abayisirayeli bamaze okudduka abalabe baabwe? Kubanga Abakanaani n'abalala bonna abali mu nsi eno, bajja kuwulira kino batuzingize batusaanyeewo. Kale olwo olikola otya okukuuma ekitiibwa kyo?” Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Situka! Lwaki ogudde ku ttaka okwevuunika bw'otyo? Abayisirayeli boonoonye. Bamenye endagaano yange gye nabalagira okukuuma. Batutte ku bintu ebiteekwa okuzikirizibwa. Babibbye ne babikukusa, ne babiteeka mu bintu byabwe. Ekyo kye kiremesezza Abayisirayeli okwaŋŋanga abalabe baabwe. Badduse abalabe baabwe, kubanga bo bennyini Abayisirayeli bafuuse ba kuzikirizibwa. Sijja kwongera kubeera nammwe, wabula nga muzikirizza ebintu ebyo bye mwagaanibwa okutwala. Situka, otukuze abantu. Bagambe beetukuze, okwetegekera olunaku lw'enkya, kubanga nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti: ‘Ggwe Yisirayeli, mu bibyo otereseemu ebintu bye nakulagira okuzikiriza. Tojja kusobola kwaŋŋanga balabe bo nga tonnabyeggyako.’ Kale bategeeze nti enkya banaaleetebwa nga bali mu bika byabwe. Ekika kye nnaalondamu, kinaavaayo, ab'ennyumba emu nga baddirirwa ab'ennyumba endala. N'ennyumba gye nnaalondamu, buli muntu anaavaayo ng'addirirwa munne. Oyo anaalondebwamu ng'alina ekiteekwa okuzikirizibwa, ajja kwokebwa omuliro, ye n'ebibye byonna by'alina, kubanga amenye endagaano yange, era akoze eky'obuswavu mu Yisirayeli.” Enkeera, Yoswa yazuukuka mu makya, n'aleeta Abayisirayeli nga bali mu bika byabwe. Ekika kya Yuda ne kirondebwamu. N'aleeta ab'Ekika kya Yuda, n'alondamu ab'ennyumba ya Zeera, ne bavaayo buli muntu kinnoomu, Zabudi n'alondebwamu. Oyo n'aleeta ab'omu nnyumba ye kinnoomu. Akani mutabani wa Karumi era muzzukulu wa Zabudi, era muzzukulu wa Zeera ow'omu Kika kya Yuda, n'alondebwamu. Yoswa n'agamba Akani nti: “Mwana wange, yogera amazima wano mu maaso ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oyatule. Kaakano mbuulira ky'okoze, tokinkisa.” Akani n'addamu nti: “Mazima nayonoonye ne nnyiiza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, era kino kye nakoze: bwe nalabye mu munyago ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaari, ne kilo nga bbiri eza ffeeza, n'ekitole kya zaabu ekiweza obuzito nga bwa kimu kyakubiri ekya kilo, ne mbiyaayaanira ne mbitwala. Biziikiddwa mu weema yange, nga ffeeza ye ali wansi.” Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani, ne basanga nga ddala ebintu gyebiri, nga ffeeza ye ali wansi. Ne babiggyayo mu weema, ne babireetera Yoswa n'Abayisirayeli bonna, ne babissa wansi mu maaso ga Mukama. Yoswa wamu n'Abayisirayeli bonna, ne bakwata Akani, mutabani wa Zeera, ne ffeeza n'ebyambalo, n'ekitole kya zaabu, ne batabani be ne bawala be, n'endogoyi ze n'endiga ze, ne weema ye, n'ebibye ebirala byonna, ne babatwala mu Kiwonvu Akori. Yoswa n'agamba nti: “Lwaki otuleetedde emitawaana? Kaakano Mukama emitawaana agituuse ku ggwe!” Abantu bonna ne bakuba Akani amayinja, n'afa. Era ne bakuba ab'omu nnyumba ye amayinja, ne bamwokera wamu nabo omuliro era n'ebintu bye byonna. Ne bamutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano. Ekiwonvu ekyo kyekyava kiyitibwa Ekiwonvu Akori. Awo Mukama n'aggweebwako obusungu bwe obukambwe. Mukama n'agamba Yoswa nti: “Totya era toterebuka. Twala abalwanyi bo bonna oyambuke e Ayi. Nja kukuwa okuwangula kabaka w'e Ayi n'abantu be n'ekibuga kye n'ensi ye. Ojja kukola ku Ayi ne kabaka waakyo kye wakola ku Yeriko ne kabaka waakyo. Naye ku mulundi guno ebintu n'amagana muyinza okubyesigaliza ng'omunyago gwammwe. Muteegere ekibuga emabega waakyo.” Awo Yoswa n'asituka n'abalwanyi bonna, n'ayambuka e Ayi. N'alondamu abazira ab'amaanyi emitwalo esatu, n'abasindika ekiro. N'abalagira nti: “Muteegere ekibuga emabega waakyo, naye nga temuli wala nakyo, mwetegeke mwenna okulumba. Nze n'abantu bonna abanaaba nange, tunaasemberera ekibuga. Ab'omu kibuga bwe banajja okutulumba, tujja kukyuka tubadduke, nga bwe twakola olwasooka. Bajja kutuwondera, okutuusa nga tumaze okubasendasenda beesuule nnyo ekibuga. Bajja kulowooza nti tubadduse nga bwe twakola olwasooka. Awo mmwe mujja kuva we muteegedde, muwambe ekibuga. Mukama Katonda wammwe anaakiwaayo mu mikono gyammwe. Bwe munaamala okukiwamba, mukyokye omuliro, nga Mukama bwe yatugamba okukola. Ebyo bye mbalagidde.” Awo Yoswa n'abasindika, ne bagenda we banaateegera, ne babeera eyo ebugwanjuba bwa Ayi, wakati wa Ayi ne Beteli. Naye Yoswa ekiro ekyo n'asula mu bantu mu lusiisira. Enkeera Yoswa n'agolokoka mu makya, n'ayita abalwanyi, ne bakuŋŋaana. Awo ye ng'ali n'abakulembeze mu Yisirayeli, n'abakulembera ne bagenda e Ayi. Abalwanyi bonna abaali naye ne bambuka, ne batuuka mu maaso g'ekibuga, ne bakuba olusiisira ku ludda olw'ebukiikakkono, nga waliwo ekiwonvu wakati waabwe ne Ayi. N'atwala abantu ng'enkumi ttaano, n'abategeka ne beekweka ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga, wakati wa Beteli ne Ayi. Abalwanyi ne bategekebwa, ng'eggye eddene liri mu bukiikakkono obw'ekibuga, ate ng'abalwanyi abalala bali mu bugwanjuba bwakyo. Yoswa n'amala ekiro ekyo mu kiwonvu. Awo kabaka w'e Ayi bwe yalaba abasajja ba Yoswa, ye n'abantu be bonna ab'omu kibuga ne banguwa mangu, ne bagenda ku makya mu Kiwonvu kya Yorudaani okulwanyisa Abayisirayeli abo, nga kabaka tamanyi nti waliwo abamuteeze emabega w'ekibuga. Yoswa n'Abayisirayeli bonna ne beefuula abakyuse okubadduka, ne badduka nga boolekedde eddungu. Abasajja bonna ab'omu kibuga ne bayitibwa okubawondera. Gye baakoma okuwondera Yoswa, gye baakoma n'okwesuula ekibuga. Abasajja bonna ne baggwaayo mu Ayi ne mu Beteli okuwondera Abayisirayeli, ne baleka ekibuga nga kiggule, awatali akikuuma. Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Effumu ly'okutte ligalulire ku Ayi, kubanga nnaakiwaayo mu mikono gyo.” Yoswa n'agalulira ku kibuga ekyo effumu ly'akutte. Yoswa olwagolola omukono gwe, abateezi ne basituka mangu gye baali beekwese, ne badduka mbiro ne bayingira mu kibuga, ne bakiwamba, amangwago ne bakyokya omuliro. Ab'e Ayi bwe baatunulako emabega ne balaba omukka oguva mu kibuga nga gunyooka okutuuka mu bire, ne babulwa gye banaddukira, kubanga Abayisirayeli abaali baddukidde mu ddungu, baabakyukira okubalumba. Yoswa n'Abayisirayeli bonna bwe baalaba ng'abateezi baabwe bawambye ekibuga era nga kinyooka omukka, awo ne bakyuka ne batandika okutta ab'e Ayi. N'Abayisirayeli abaali mu kibuga, nabo ne bajja okulumba abalabe. Olwo ab'e Ayi ne babeera wakati, nga beetooloddwa Abayisirayeli, ne battibwa bonna, ne wataba n'omu asigalawo, wadde adduka, okuggyako kabaka w'e Ayi gwe baawamba nga mulamu, ne bamutwalira Yoswa. Awo Abayisirayeli bwe baamala okuttira ddala abatuuze b'omu Ayi bonna abaali babawondedde mu ddungu, ne bakomawo mu Ayi, ne batta buli muntu eyalimu. Wabula amagana n'ebintu, Abayisirayeli bye baanyaga mu kibuga, ne babyetwalira, nga Mukama bwe yalagira Yoswa. Awo Yoswa n'ayokya Ayi omuliro, n'akireka nga matongo, era ne leero bwe kikyali. N'awanika kabaka w'e Ayi ku muti okutuusa olweggulo. Enjuba bwe yagwa, n'alagira bawanuleyo omulambo, ne bagusuula ku mulyango ogwa wankaaki w'ekibuga, ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja ekyaliwo ne kaakano. Awo Yoswa n'azimbira Mukama, Katonda wa Yisirayeli, alutaari ku Lusozi Ebali. Yagizimba ng'agoberera ebiragiro bya Musa, omuweereza wa Katonda, bye yawa Abayisirayeli, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa nti: “Alutaari ekolebwenga na mayinja amalamba agatayasiddwa na kyuma kyonna.” Ne baweerako eri Mukama ebitambiro ebyokebwa, era ne bawaayo ebiweebwayo olw'okutabagana. Amateeka Musa ge yawandiika, Yoswa n'agawandiika awo ku mayinja ng'Abayisirayeli balaba. Abayisirayeli bonna enzaalwa era n'ab'amawanga amalala ababeera mu bo, n'abakulembeze baabwe n'abaami era n'abalamuzi baabwe ne bayimirira erudda n'erudda lw'Essanduuko, nga batunuulidde bakabona Abaleevi, abasitudde Essanduuko eyo ey'Endagaano ya Mukama. Ekitundu kyabwe ekimu ekyokubiri, baayimirira nga batunuulidde Olusozi Gerizimu, n'ekitundu ekirala nga batunuulidde Olusozi Ebali. Bw'atyo Musa omuweereza wa Katonda bwe yabalagira okusooka okukola, nga bagenda okuweebwa omukisa. Awo Yoswa n'asoma mu lwatu Amateeka gonna, omuli ebigambo eby'okusabira omukisa n'okukolima, nga bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky'Amateeka. Tewali teeka lya Musa na limu Yoswa ly'ataasomera lukuŋŋaana lwonna olw'Abayisirayeli, omuli abakazi n'abaana abato, n'ab'amawanga amalala ababeera mu bo. Awo obuwanguzi bwa Yoswa ne buwulirwa mu bakabaka bonna ab'omu bugwanjuba bwa Yorudaani, mu nsozi ne mu nsenyi, ne ku lubalama lwonna olw'Ennyanja Eyaawakati, okutuukira ddala ku Lusozi Lebanooni. Abo be bakabaka b'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abakanaani, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi. Bonna ne bakuŋŋaanira wamu okulwanyisa Yoswa n'Abayisirayeli. Naye abatuuze b'e Gibiyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku Yeriko ne ku Ayi, ne basala amagezi. Ne bagenda ne basiba ebyokulya. Ne bateeka ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'ensawo z'omwenge ez'amaliba enkadde ezikubiddwamu ebiraka. Ne bambala engoye ezikaddiye, n'engatto ezikaddiye era ezikubiddwamu ebiraka. N'emmere yaabwe yonna ey'entanda yali ekaliridde, ng'ekutte n'obukuku. Ne bajja mu lusiisira e Gilugaali, ne bagamba Yoswa n'Abayisirayeli nti: “Tuvudde mu nsi ya wala. Twagala mukole naffe endagaano ey'okutabagana.” Abayisirayeli ne bagamba Abahiivi abo nti: “Bwe muba nga muli ba kumpi naffe, kale tunaakola tutya nammwe endagaano ey'okutabagana?” Ne bagamba Yoswa nti: “Tuli baddu bo.” Yoswa n'ababuuza nti: “Mmwe baani? Era muva wa?” Ne bamuddamu nti: “Ffe abaddu bo tuvudde mu nsi ya wala nnyo okujja wano, kubanga twawulira ku Mukama, Katonda wo. Twawulira ettutumu lye ne byonna bye yakola mu Misiri, ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abaamori, abaali mu buvanjuba bwa Yorudaani: Sihoni, kabaka w'e Hesubooni, ne Ogi, kabaka w'e Basani, eyali mu Asitarooti. Abakulembeze baffe n'abantu bonna abali mu nsi yaffe, baatugamba okusibira olugendo luno entanda n'okujja okubasisinkana mmwe, tubategeeze nga tuli baddu bammwe, n'okubasaba mukole naffe endagaano ey'okutabagana. Emmere yaffe yiino. Twagisiba entanda nga tukyali ka, ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli. Naye kaakano, yiino ekaliridde, era ekutte obukuku. N'ensawo ez'omwenge zino ez'amaliba, twazijjuza nga mpya. Naye mulabe! Ziizino ziyuliseyulise! N'ebyambalo byaffe bino n'engatto zaffe, bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo.” Abayisirayeli ne balya ku ntanda yaabwe, naye ne bateebuuza ku Mukama. Yoswa n'akola n'abantu b'e Gibiyoni endagaano ey'okutabagana, n'abalagaanya obutabatta. Abakulembeze b'ekibiina ky'Abayisirayeli ne babalayirira okukuuma endagaano eyo. Bwe waayitawo ennaku ssatu nga bamaze okukola endagaano eyo, Abayisirayeli ne bawulira ng'abantu abo baliraanwa baabwe ab'okumpi ddala. Abayisirayeli ne batambula, era mu nnaku ssatu ne batuuka mu bibuga byabwe Gibiyoni ne Kefira, ne Beetoti ne Kiriyati Yeyariimu. Naye Abayisirayeli ne batabatta, kubanga abakulembeze baabwe baali babalayiridde Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulembeze. Naye abakulembeze bonna ne babaddamu nti: “Abantu bano twabalayirira Mukama Katonda wa Yisirayeli. Kale kaakano tetuyinza kubakolako kabi. Kye tunaabakolera kwe kubaleka nga balamu, Mukama aleme kutusunguwalira olw'ekirayiro kye twabalayirira.” Abakulembeze era ne bagamba nti: “Mubaleke nga balamu, basennyerenga enku era basenerenga amazzi ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.” Yoswa n'atumya abantu b'e Gibiyoni, n'ababuuza nti: “Lwaki mwatulimba nga mugamba nti muli ba wala nnyo, sso ate nga muli ba wano kumpi? Kale kaakano mukolimiddwa. Abantu bammwe banaabanga baddu bulijjo, abanaasennyeranga enku era abanaaseneranga amazzi Ennyumba ya Katonda wange.” Ne bamuddamu nti: “Ssebo, ekyo twakikola, kubanga ffe abaddu bo, twawulira nti ddala kituufu nga Mukama, Katonda yalagira omuweereza we Musa okubawa mmwe ensi eno yonna, n'okutta abantu bonna abagirimu nga mujja. Bwe mwajja, ne tutya nnyo nti mujja kututta, kyetwava tukola ekyo. Kaakano tuli mu mikono gyo. Tukole kyonna ky'olaba nga kirungi era nga kye kituufu.” Era Yoswa kye yakola kwe kubakuuma, n'ataganya Bayisirayeli kubatta. Wabula okuva olwo n'abalagira okusennyeranga enku n'okukimiranga amazzi Abayisirayeli ne alutaari ya Mukama, mu kifo Mukama ky'anaasiimanga. Ogwo gwe mulimu gwe bakyakola ne kaakano. Awo Adonizedeki kabaka w'e Yerusaalemu, n'awulira nga Yoswa awambye era ng'asaanyirizzaawo ddala Ayi, n'atta ne kabaka waakyo, nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waakyo. Era n'awulira ng'ab'e Gibiyoni bakoze endagaano ey'okutabagana n'Abayisirayeli, era nga babeera mu bo. Abantu b'e Yerusaalemu ne batya nnyo, kubanga Gibiyoni kyali kibuga kinene, ng'ekibuga ekirala kyonna ekyalimu kabaka. Kyali kinene okusinga Ayi, n'abantu baayo nga balwanyi ba maanyi. Awo Adonizedeki n'atumira Kabaka Hohamu ow'e Heburooni ne Kabaka Piramu ow'e Yarumuti, ne Kabaka Yafiya ow'e Lakisi, ne Kabaka Debiri ow'e Egulooni nti: “Mujje munnyambe okulumba Gibiyoni, kubanga abantu baakyo bakoze endagaano ey'okutabagana ne Yoswa n'Abayisirayeli.” Bakabaka bano abataano ab'Abaamori: ow'e Yerusaalemu n'ow'e Heburooni, n'ow'e Yerumuti, n'ow'e Lakisi, n'ow'e Egulooni, ne beegatta wamu ne batwala amagye gaabwe gonna, ne basiisira okwebungulula Gibiyoni, ne bakirwanyisa. Awo ab'e Gibiyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Gilugaali nti: “Toyabulira baddu bo. Jjangu mangu gye tuli, otudduukirire, otuwonye! Bakabaka bonna ab'Abaamori ababeera mu nsi ey'ensozi beetabye wamu ne batulumba.” Awo Yoswa n'ava e Gilugaali n'eggye lye lyonna, omuli n'abalwanyi bonna ab'amaanyi. Mukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya, kubanga mmaze okubateeka mu mikono gyo. Tewaabe n'omu mu bo anaasobola kukwesimbako.” Ekiro kyonna Yoswa n'atambula n'eggye lye, okuva e Gilugaali, n'azinduukiriza Abaamori nga tebamanyi. Mukama n'akuba Abaamori entiisa, nga balabye Abayisirayeli. Abayisirayeli ne babattamu bangi nnyo e Gibiyoni, ne babawondera mu kkubo eryambuka e Betooroni, ne babakuba okutuusiza ddala e Azeka ne Makkeda. Awo Abaamori bwe baali nga badduka Abayisirayeli, Mukama n'atonnyesa amayinja amanene ag'omuzira, ne gabakuba. Abattibwa amayinja ago ag'omuzira, ne basinga obungi abo abattibwa Abayisirayeli. Ku lunaku Mukama lwe yaweerako Abayisirayeli okuwangula Abaamori, Yoswa n'ayogera ne Mukama mu maaso g'Abayisirayeli, n'agamba nti: “Ggwe enjuba, yimirira waggulu wa Gibiyoni. Naawe omwezi, yimirira waggulu w'Ekiwonvu Ayalooni.” Enjuba n'eyimirira, omwezi ne gulinda, okutuusa eggwanga lwe lyamala okuwangula abalabe baalyo. Kino kyawandiikibwa mu Kitabo kya Yasari. Enjuba yalindira ku ggulu wakati, n'etayanguyiriza kugwa, okumala ng'olunaku lulamba. Tebangawo lunaku, era tewaliba lulala olwenkana ng'olwo, Mukama okuwulira omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Yisirayeli! Ebyo bwe byaggwa, Yoswa n'akomawo n'Abayisirayeli bonna mu lusiisira e Gilugaali. Awo bakabaka abo abataano ab'Abaamori ne badduka, ne beekweka mu mpuku e Makkeda. Ne wabaawo abaabuulira Yoswa nti: “Bakabaka tubalabye nga beekwese mu mpuku e Makkeda.” Yoswa n'agamba nti: “Muyiringise amayinja amanene mugateeke mu mulyango gw'empuku, muteekewo n'abakuumi. Naye mmwe temusigala awo. Muwondere abalabe bammwe, mubakube nga mubava emabega. Temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe. Mukama abawadde mmwe okubawangula.” Awo Yoswa n'Abayisirayeli ne bamaliriza okutta abantu abangi ennyo kumpi okubamalirawo ddala, mu bibuga ebiriko ebigo. Olwo Abayisirayeli bonna ne bakomawo mirembe mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda. Tewali muntu n'omu mu nsi eyo eyaguma wadde okwogera obubi ku Bayisirayeli. Awo Yoswa n'agamba nti: “Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano, mubandeetere.” Ne baggulawo empuku, ne baggyamu bakabaka abataano: ow'e Yerusaalemu, n'ow'e Heburooni, n'ow'e Yarumuti, n'ow'e Lakisi, n'ow'e Egulooni. Ne babaleeta eri Yoswa. Yoswa n'ayita abasajja Abayisirayeli bonna, n'agamba abakulembeze b'abalwanyi abaagenda naye nti: “Mujje mulinnye ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano.” Ne bajja, ne balinnya ebigere byabwe mu bulago bwa bakabaka abo. Awo Yoswa n'agamba abakulembeze nti: “Temutya, era temuggwaamu maanyi, era mugume omwoyo, kubanga kino Mukama ky'agenda okukola ku balabe bammwe bonna be munaalwanyisa.” Awo Yoswa n'atta bakabaka abo, emirambo gyabwe n'agiwanika ku miti etaano, ne gibeerayo okutuusa olweggulo. Enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne baggyayo emirambo gyabwe, ne gisuulibwa mu mpuku mwe baali beekwese okusooka, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, agakyaliwo n'okutuusa kati. Ku lunaku olwo, Yoswa n'alumba era n'awamba Makkeda ne kabaka waamu. N'atta buli muntu eyakirimu, obutalekaawo n'omu. N'akola ku kabaka w'e Makkeda nga bwe yakola ku kabaka w'e Yeriko. Awo Yoswa n'ava mu Makkeda ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Labuna n'akirumba. Mukama n'awa Abayisirayeli nakyo okukiwangula ne kabaka waamu. Ne batta abaakirimu bonna, obutataliza n'omu. Ne bakola ku kabaka waamu nga bwe baakola ku kabaka w'e Yeriko. Yoswa n'ava mu Libuna ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Lakisi, n'akyebungulula. Mukama n'awa Abayisirayeli okuwangula Lakisi ku lunaku olwokubiri. Nga bwe baakola e Libuna, ne batta abantu bonna abaakirimu, nga tebataliza n'omu. Kabaka Horamu ow'e Gezeri n'ajja okuyamba Lakisi. Kyokka Yoswa n'amuwangula ye n'abantu be, n'atalekaawo n'omu nga mulamu. Awo Yoswa n'ava mu Lakisi ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Egulooni, n'asiisira okukyebungulula, n'akirwanyisa. Ne bakiwamba ku lunaku olwo lwe lumu, ne batta abantu bonna abaakirimu, nga tebataliza n'omu, mu ngeri ye emu nga bwe baakola e Lakisi. Awo Yoswa n'ava mu Egulooni ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Heburooni, n'akirwanyisa. Ne bakiwamba, ne batta kabaka waamu n'abantu bonna abaakirimu, n'abaali mu bubuga bwakyo bwonna, nga tebataliza muntu n'omu, mu ngeri ye emu nga bwe baakola mu Egulooni. Yoswa n'akizikiririza ddala, n'atalekaamu muntu n'omu nga mulamu. Yoswa n'akomawo n'eggye lye lyonna e Debiri, n'akirwanyisa. N'akiwamba ne kabaka waamu, n'obubuga bwakyo bwonna. Ne batta abaayo bonna, obutalekaawo n'omu. Yoswa n'akola ku Debiri ne kabaka wamu nga bwe yakola ku Heburooni ne Libuna ne bakabaka baamu. Yoswa n'awangula ensi eyo yonna, ekitundu eky'ensozi, n'ekitundu eky'omu bukiikaddyo, n'eky'ensenyi, n'eky'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna. N'atta abaayo bonna, nga Mukama, Katonda wa Yisirayeli bwe yalagira, n'atatalizaawo n'omu. Yoswa n'abawangula okuva e Kadesibaruneya, okutuuka e Gaaza, n'ensi yonna ey'e Goseni, okutuukira ddala e Gibiyoni. Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abawangula omulundi gumu, kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli yalwanirira Yisirayeli Awo Yoswa n'akomawo n'eggye lyonna mu lusiisira e Gilugaali. Awo Yabini kabaka wa Hazori bwe yawulira ebyo, n'atumira Yobabu kabaka wa Madoni, kabaka wa Simurooni n'owa Akusafu, ne bakabaka abaali mu nsi ey'ensozi mu bukiikaddyo obw'Ennyanja y'e Galilaaya, ne mu nsenyi ne mu nsozi, ne ku lubalama okuliraana Doori. Era n'atumira n'Abakanaani abaali ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwa Yorudaani, n'Abaamori, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi mu nsi ey'ensozi, n'Abahiivi mu nsi y'e Mizupa, Olusozi Herumooni gye lusimba. Ne bajja n'amagye gaabwe gonna, ng'obungi bali ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era baalina embalaasi nnyingi nnyo n'amagaali. Bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana, ne bajja basiisira ku mazzi g'e Meromu okulwanyisa Yisirayeli. Mukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya abo, kubanga enkya mu kiseera nga kino, nja kuba nga mmaze okubagabula eri Yisirayeli, nga bafu. Embalaasi zaabwe ojja kuzitema enteega, amagaali gaabwe ogookye omuliro.” Awo Yoswa n'ajja ng'ali n'abalwanyi be bonna, n'abazinduukiriza ku mazzi g'e Meromu nga tebamanyi. Mukama n'awa Abayisirayeli okubawangula, Abayisirayeli ne babakuba, ne babawondera okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefooti-Mayiimu, ne ku Kiwonvu ky'e Mizupa mu buvanjuba. Ne babatta obutalekaawo n'omu nga mulamu. Yoswa n'abakolako Mukama kye yamulagira: embalaasi zaabwe n'azitema enteega, amagaali gaabwe n'agookya omuliro. Awo Yoswa n'adda emabega mu kiseera ekyo, n'awamba Azoni n'atta kabaka waamu. Mu biseera ebyo Hazori kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna. Ne batta abantu bonna abaakirimu, ne batalekaawo n'omu nga mulamu, n'ekibuga ne bakyokya omuliro. Yoswa n'awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baamu, n'atta buli muntu nga Musa, omuweereza wa Mukama bwe yalagira. Naye ebibuga ebyazimbibwa ku bifunvu, oba ku busozi, tebaayokyako na kimu, okuggyako Hazori kyokka. Ekyo Yoswa kye yayokya. Abayisirayeli ne beetwalira omunyago gw'ebyobugagga byonna n'amagana, bye baggya mu bibuga ebyo. Naye ne batta buli muntu obutalekerawo ddala n'omu nga mulamu. Mukama ye yawa bw'atyo omuweereza we Musa ebiragiro, Musa n'abiwa Yoswa, ne Yoswa n'abituukiriza. Teyalekayo kintu na kimu Mukama kye yalagira Musa. Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna ey'ensozi n'ey'ensenyi mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, n'ekitundu kyonna eky'e Goseni, n'ensi enkalu ey'ebugwanjuba bwakyo, era n'Ekiwonvu kya Yorudaani, n'okuva ku Lusozi Halaki okwambuka e Seyiri, okutuuka e Baalugaadi mu Kiwonvu kya Lebanooni, wansi w'Olusozi Herumooni. Bakabaka baayo bonna n'abawamba n'abatta. Yoswa n'alwawo ng'alwanyisa bakabaka b'ebitundu ebyo byonna. Tewali kibuga kyakola ndagaano ya kutabagana na Bayisirayeli okuggyako Gibiyoni, ekyalimu abamu ku Bahiivi. Ebirala byonna byawambibwa mu lutalo. Mukama ye yakakanyaza emitima gy'abantu baamu okujja okulwanyisa Abayisirayeli, balyoke battibwe awatali kisa, era bazikiririzibwe ddala, nga Mukama bwe yalagira Musa. Mu biseera ebyo, Yoswa n'agenda n'azikiriza Abaanaki mu nsi ey'ensozi, mu Heburooni, mu Debiri, mu Anabu, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Buyudaaya ne Yisirayeli. Yoswa n'abazikiririza ddala n'ebibuga byabwe. Tewali Baanaki baasigalawo mu nsi y'Abayisirayeli, okuggyako mu Gaaza ne mu Gaati ne mu Asudoodi. Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna, nga Mukama bwe yagamba Musa. Yoswa n'awa Abayisirayeli ensi eyo ebe yaabwe, nga buli kika akiwa ekitundu ekyakyo. Awo ensi n'ewummula entalo, n'eba mirembe. Bano be bakabaka b'ensi, Abayisirayeli be baawangula ne beefuga ensi yaabwe emitala wa Yorudaani ku ludda olw'ebuvanjuba ne beefuga ensi yaabwe okuva ku Kiwonvu ekya Arunoni okwambuka n'Ekiwonvu ekya Yorudaani, okutuuka ku Lusozi Herumooni mu bukiikakkono: baawangula Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. Obwakabaka bwe bwazingirangamu ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi, okuva ku Aroweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu kiwonvu wakati, okutuuka ku Mugga Yabboki, ensalo y'Abammoni. Era bwatwalirangamu Ekiwonvu ekya Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya, mu bukiikaddyo, okutuuka e Betiyesimooti ebuvanjuba bw'Ennyanja y'Omunnyo n'okweyongerayo, okutuuka wansi w'Olusozi Pisuga. Era baawangula ne Ogi, kabaka w'e Basani, eyali omu ku Bareefa abaasembayo, eyafugiranga mu Asitarooti ne mu Edureyi. Obwakabaka bwe bwazingirangamu Olusozi Herumooni, ne Saleka, ne Basani yonna, okutuuka ku nsalo ya Gesuri ne Maaka, awamu n'ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi, okutuuka ku nsalo y'obwakabaka bwa Sihoni ow'e Hesubooni. Musa n'Abayisirayeli baawangula bakabaka abo, ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa Abarewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, ebe yaabwe. Yoswa n'Abayisirayeli baawangula bakabaka bonna mu kitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani, okuva e Baalugaadi mu Kiwonvu kya Lebanooni, okutuuka ku Lusozi Halaki, okwambuka e Seyiri. Yoswa n'awa Abayisirayeli ensi eno, ebe yaabwe, buli kika ng'akiwa ekitundu ekyakyo. Ekitundu ekyo kyazingirangamu ensi ey'ensozi n'ensi ey'ensenyi, n'Ekiwonvu kya Yorudaani, n'obusozi obw'ebuvanjuba, n'eddungu, n'ensi ey'omu bukiikaddyo. Ekitundu ekyo mwe mwabeeranga Abahiiti, Abaamori, Abakanaani, Abaperizi, Abahiivi n'Abayebusi. Abayisirayeli baawangula bakabaka b'ebibuga bino: Yeriko, Ayi ekiriraanye Beteli, Yerusaalemu, Heburooni, Yalamuti, Lakisi, Egulooni, Gezeri, Debiri, Gederi, Horuma, Aradi, Libuna, Adullamu, Makkeda, Beteli, Tappuwa, Eferi, Afeki, Lasarooni, Madoni, Hazori, Simurooni, Merooni, Akusafu, Taanaki, Megiddo, Kedesi, Yokuneyaamu ku Karumeeli, Doori ku lubalama, Goyiimu mu Gilugaali, ne Tiruza, bonna wamu bakabaka amakumi asatu mu omu. Yoswa yali akaddiye nnyo. Mukama n'amugamba nti: “Okaddiye nnyo, naye wakyaliwo ebitundu by'ensi bingi ebitannawangulwa, bye bino: ekitundu kyonna eky'Abafilistiya n'eky'Abagesuri: okuva ku Mugga Sihori, ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo ne Sihori mu bukiikakkono, ekibalibwa okuba eky'Abakanaani era ekifugibwa abakungu abataano Abafilistiya, ababeera e Gaaza, ne Asudoodi ne Asukelooni, ne Gaati ne Ekurooni, n'ekitundu kyonna eky'Abavvimu, mu bukiikaddyo. Wakyaliwo n'ensi yonna ey'Abakanaani, ne Meyara eky'Abasidoni, okutuuka ku Afeki ku nsalo n'Abaamori; n'ensi y'Abagebali, ne Lebanooni yonna ebuvanjuba, okuva e Baalugaadi, wansi w'Olusozi Herumooni, okutuuka ku Muwaatwa gw'e Hamati. Abantu bonna ab'omu nsi ey'ensozi, okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefaati Mayimu, n'Abasidoni bonna, nja kubagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli balaba, naye ggwe ogiwe Abayisirayeli ebe yaabwe, nga bwe nakulagira. Kale kaakano ensi eno gigabanyizeemu ebika omwenda, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ekika kya Manasse, ebe yaabyo.” Ekika kya Rewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, byali bimaze okufuna ebitundu ebyabyo, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani. Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Aroweri ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu ekyo, ne kizingiramu n'omuseetwe ogw'e Medeba, okutuuka ku nsalo ne Ammoni, ne kitwaliramu n'ebibuga byonna ebyali ebya Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. Era kyazingirangamu ne Gileyaadi, n'ebitundu by'e Gesuri ne Maaka, n'olusozi lwonna Herumooni, ne Basani yonna, okutuuka ku Saleka. Kyalimu obwakabaka bwonna obwa Ogi eyasembayo mu Bareefa, eyafugiranga mu Asitarooti, ne mu Edereyi eby'omu Besani. Abo Musa yabawangula n'abasaanyaawo. Naye Abayisirayeli tebaagobamu Bagesuri, wadde Abamaakiti. Bakyabeera mu Yisirayeli n'okutuusa kati. Ekika kya Leevi kye kyokka Musa ky'ataawa ttaka libe eryakyo. Omugabo ogwabwe baali ba kugufunanga ku bitambiro ebyokebwa ku alutaari ya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba Musa. Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu Kika kya Rewubeeni libe eryabwe. Ekitundu kyabwe kyava ku Aroweri ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu ekyo, ne kizingiramu n'omuseetwe ogw'e Medeba. Era kyatwaliramu Hesubooni, n'ebibuga byonna eby'omu museetwe: Diboni, Bamooti Baali, Beti Baalimooni, Yakazi, Kedemooti, Mefaati, Kiriyatayiimu, Sibuma, Zeretisakari, ku lusozi olw'omu kiwonvu, Betipeyori, obuserengeto bw'Olusozi Pisuga, era ne Beti Yesimooti. Kyalimu n'ebibuga byonna eby'omu museetwe, n'obwakabaka bwonna obwa Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. Musa yamuwangula awamu n'abafuzi ba Midiyaani: Evi, ne Rekemu, ne Zuuri, ne Huuri, ne Reba, abaali abakungu ba Kabaka Sihoni mu nsi eyo. Mu abo Abayisirayeli be batta, mwe mwali n'omulaguzi Balamu, mutabani wa Bewori. Omugga Yorudaani ye yali ensalo y'Ekika kya Rewubeeni ebugwanjuba. Ebyo bye bibuga n'ebyalo ebibyetoolodde, ebyaweebwa ab'ennyumba z'Ekika kya Rewubeeni okuba ebyabwe. Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu Kika kya Gaadi libe eryabwe. Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri n'ebibuga byonna ebya Gileyaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ensi y'Abammoni, okutuuka ku Aroweri, ebugwanjuba bwa Rabba. Ekitundu kyabwe ne kiva ku Hesubooni okutuuka ku Lamati Mizupa ne Betonimu, n'okuva ku Mahanayimu okutuuka ku nsalo ne Lodebari. Mu Kiwonvu kya Yorudaani, Abagaadi baatwala Beti Aramu, ne Betunimura, ne Sukkoti ne Safoni, n'ekitundu ekisigaddewo eky'obwakabaka bwa Sihoni ow'e Hesubooni. Ensalo yaabwe mu bugwanjuba gwe Mugga Yorudaani, okwambukira ddala okutuuka ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya. Ebyo bye bibuga n'ebyalo ebibyetoolodde, ebyaweebwa ab'ennyumba z'omu Kika kya Gaadi okuba ebyabwe. Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse. Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Mahanayimu ne kitwaliramu Basani yonna, eyali obwakabaka bwa Ogi kabaka wa Basani, n'ebyalo byonna enkaaga ebya Yayiri ebiri mu Basani. Kyazingiramu ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi awamu ne Asitarooti ne Edereyi, ebibuga ebikulu eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani. Ebyo byonna byaweebwa ekimu ekyokubiri eky'ab'ennyumba z'abasibuka mu Makiri, omwana wa Manasse. Bw'atyo Musa bwe yagabanyaamu ekitundu ekiri ebuvanjuba bwa Yeriko ne Yorudaani, mu nsenyi za Mowaabu. Naye ab'Ekika kya Leevi, Musa teyabawa ttaka libe lyabwe. Yabagamba nti omugabo ogwabwe banaagufunanga ku biweebwayo eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Bino bye bitundu Abayisirayeli bye baagabana mu nsi y'e Kanaani, Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni n'abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli bye baabagabira. Ebitundu ebyaweebwa ebika omwenda n'ekitundu, byagabibwa nga bakuba kalulu, nga Mukama bwe yalagira Musa. Ekitundu eky'ebuvanjuba bwa Yorudaani, Musa yali amaze okukiwa ebika ebibiri n'ekitundu. Naye Abaleevi tebaaweebwa ttaka libe lyabwe. Bazzukulu ba Yosefu baavaamu ebika bibiri: Manasse ne Efurayimu. Bo Abaleevi tebaaweebwa mugabo gwa ttaka, wabula ebibuga eby'okubeerangamu. Baaweebwa n'ebyalo ebyetoolodde ebibuga ebyo, bakuumirengamu amagana gaabwe n'ebintu byabwe ebirala. Abayisirayeli baagabana ensi eyo nga Mukama bwe yalagira Musa. Awo abamu ku b'omu Kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa mu Gilugaali. Kalebu, mutabani wa Yefunne, Omukenizi n'agamba Yoswa nti: “Omanyi Mukama kye yagamba Musa omuntu wa Katonda mu Kadesibaruneya, ekikwata ku nze naawe. Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesibaruneya okuketta ensi eno, nali mpeza emyaka amakumi ana egy'obukulu. Namuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe nabiraba. Naye bannange be nagenda nabo, ne baleetera abantu baffe okutya. Naye nze nakolera ddala ekyo Mukama Katonda wange ky'ayagala. Musa n'andayirira ku lunaku olwo nti: ‘Nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange ky'ayagala, ekitundu ky'ensi ky'olinnyeemu ekigere kyo, kiriba kikyo ggwe n'abaana bo ennaku zonna.’ Era kaakano, laba emyaka giweze amakumi ana mu etaano, Mukama bukya agamba Musa ebigambo ebyo. Olwo Yisirayeli yali ekyatambula mu ddungu. Era Mukama ankuumye nga ndi mulamu nga bwe yasuubiza. Laba, ndi wa myaka kinaana mu etaano, era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako. Nkyalina amaanyi okulwana mu lutalo oba okukola ekirala kyonna. Kale kaakano mpa ekitundu kino eky'ensozi, Mukama kye yayogerako ku lunaku luli, kubanga ku lunaku olwo wawulira nga Abaanaki be baaliyo mu bibuga ebinene ebyaliko ebigo. Osanga Mukama anaabeera nange ne mbagobamu, nga Mukama bwe yagamba.” Yoswa n'asabira omukisa Kalebu mutabani wa Yefunne, n'amuwa ekibuga Heburooni okuba ekikye. Okuva olwo Heburooni ne kibeera ekya Kalebu mutabani wa Yefunne Omukenizi n'okutuusa kati, kubanga Kalebu yakolera ddala, Mukama, Katonda wa Yisirayeli ky'ayagala. Edda Heburooni kyayitibwanga Kibuga kya Aruba. Aruba oyo ye yali asinga obukulu mu Baanaki. Awo ensi n'ewummula entalo. Ekitundu akalulu kye kaawa ab'ennyumba ez'omu Kika kya Yuda, kyatuuka ku nkomerero y'eddungu ly'e Ziini mu bukiikaddyo, ku nsalo ne Edomu. Ensalo ey'obukiika obwo yaviira ddala bukiikaddyo obw'Ennyanja ey'Omunnyo, ne yeeyongerayo mu bukiikaddyo, okuva ku Muwaatwa gw'e Akurabbimu, okutuuka ku Ziini, n'eyita mu bukiikaddyo obwa Kadesibaruneya, n'eyita kumpi ne Hezirooni n'etuuka ku Addari, n'ekyamira ku Karuka; n'egenda ku Azumooni, n'egoberera omugga ogw'oku nsalo ne Misiri, okutuukira ddala ku nkomerero yaayo ku Nnyanja Eyaawakati. Eyo ye nsalo ya Yuda ey'omu bukiikaddyo. Ensalo ey'ebuvanjuba yali Nnyanja ya Munnyo, okutuuka Omugga Yorudaani we guyiira mu nnyanja eyo. N'ensalo ey'oludda olw'ebukiikakkono, yatandikira awo, n'eyambuka okutuuka ku Betoogula, n'eyita ku bukiikakkono obw'Ekiwonvu kya Yorudaani, n'eyambuka okutuuka ku Jjinja lya Bokani, mutabani wa Rewubeeni. N'eva ku Kiwonvu Akori okwambuka e Debiri, n'eraga e Gilugaali mu bukiikakkono, ekitunuulidde ekkubo eryambuka ku Lusozi Adummimu, oluli emitala w'omugga ku ludda olw'ebukiikaddyo. Ne yeeyongerayo okutuuka ku mazzi ag'e Ensemesi, n'ekoma ku Enerogeli. Awo ensalo n'eyita mu Kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu, ku ludda olw'ebukiikaddyo obw'olusozi, okwali Yerusaalemu, ekibuga ky'Abayebusi. Ensalo n'eyambuka ku ntikko y'olusozi olutunuulidde ekiwonvu kya Hinnomu, ku ludda olw'ebugwanjuba, ku nkomerero y'Ekiwonvu kya Refayiimu ey'omu bukiikakkono. Okuva awo, ensalo n'eraga ku nsulo z'amazzi ga Nefutowa, n'etuuka ku bibuga eby'oku Lusozi Efurooni. Awo ensalo n'ewetamu n'eyolekera Baala oba Kiriyati Yeyariimu. Ku Baala w'ekyamira ku ludda olw'ebugwanjuba n'edda ku Lusozi Seyiri, n'egenda okutuuka ku Lusozi Yeyariimu oba Kyesalooni ku ludda olw'ebukiikakkono, n'ekka ku Betisemesi, n'eyita ku mabbali ga Timuna. Ensalo n'eyita ku mabbali g'ebukiikakkono obw'Olusozi Ekurooni, n'ewetamu n'eyolekera Sikkerooni, n'eyita ku Lusozi Baala, n'etuuka ku Yabineeli, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati, ennyanja eyo n'eba ensalo ey'ebugwanjuba. Ezo ze nsalo ezeetooloodde enjuyi zonna ez'ekitundu ekyaweebwa ab'ennyumba za Yuda. Yoswa n'awa Kalebu mutabani wa Yefunne omugabo mu b'Ekika kya Yuda, nga Mukama bwe yamulagira. N'amuwa Heburooni, ekibuga kya Aruba kitaawe wa Anaki. Kalebu n'akigobamu bazzukulu ba Anaki abasibuka mu baana be abasatu: Sesayi ne Ahimaani ne Talumayi. N'ava eyo, n'alumba ab'omu kibuga Debiri, edda ekyayitibwanga Kiriyati Seferi, Kalebu n'agamba nti: “Omusajja anaalumba Kiriyati Seferi n'akiwamba, nja kumuwa muwala wange Akusa amuwase.” Ofiniyeeli, mutabani wa Kenazi, muganda wa Kalebu n'akiwamba, Kalebu n'amuwa muwala we Akusa okumuwasa. Akusa bwe yajja eri Ofiniyeeli, n'amukuutira asabe kitaawe amuwe ekibanja. Akusa n'ava ku ndogoyi ye. Kalebu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” Akusa n'addamu nti: “Njagala ompe ekirabo. Nga bw'ompadde ensi enkalu, era mpa n'enzizi z'amazzi.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga. Bino bye bitundu ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Yuda bye baafuna bibe byabwe. Ebibuga ebisemberayo ddala ku ludda olw'ebukiikaddyo ku nsalo ne Edomu, byali Kabuzeeli, ne Ederi, ne Yaguri, ne Kina, ne Dimona, ne Adada; ne Kedesi, ne Hazori, ne Yitunani, ne Zifu, ne Telemu, ne Beyalooti, ne Hazori Hadatta, ne Keriyooti Hezirooni oba Hazori, ne Amamu, ne Sema, ne Molada, ne Hazari Gadda, ne Hesumooni, ne Betupeleti, ne Hazari, ne Suwali, ne Beruseba, ne Biziyotiya, ne Baala, ne Yimu, ne Ezemu, ne Elutoladi, ne Kyesili, ne Horuma, ne Zikulagi, ne Madimenna, ne Sansanna, ne Lebawooti, ne Siluhiimu, ne Ayini, ne Rimmoni: ebibuga amakumi abiri mu mwenda n'ebyalo ebibyetoolodde. Ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi byali Esutawoli ne Zora ne Asuma, ne Zanowa, ne Engannimu, ne Tappuwa, ne Enamu, ne Yarumuti, ne Adullamu, ne Soko, ne Azeka, ne Sarayiimu, ne Aditayiimu, ne Gedera, ne Gederotayimu: ebibuga kkumi na bina n'ebyalo ebibyetoolodde. Waaliwo ne Zenani, ne Hadasa, ne Midugudalugaadi, ne Dileyaani ne Mizupa, ne Yokuteeli, ne Lakisi, ne Bozukati, ne Egulooni, ne Kabboni, ne Kitulisi, ne Gederoti, ne Betidagooni, ne Naama, ne Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo ebibyetoolodde. Era waaliwo ne Libuna, ne Eteri, ne Asani; ne Yifuta, ne Asuna, ne Neziibu, ne Keyila, ne Akuzibu, ne Maresa: ebibuga mwenda n'ebyalo ebibyetoolodde. Waaliwo Ekurooni n'ebibuga n'ebyalo ebikyetoolodde, n'ebibuga byonna n'ebyalo okumpi ne Hasudoodi, okuva ku Ekurooni okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati. Waaliwo Asudoodi, ne Gaaza n'obubuga bwabyo n'ebyalo byabyo, okutuuka ku mugga gw'oku nsalo ne Misiri, ne ku lubalama lw'Ennyanja Eyaawakati. Mu nsi ey'ensozi mwalimu Samiri, ne Yattira, ne Soko, ne Danna, ne Kiriyati Sanna oba Debiri, ne Anabu, ne Esutemo, ne Animu, ne Goseni, ne Holoni, ne Gilo: ebibuga kkumi na kimu n'ebyalo ebibyetoolodde. Waaliwo Arabu, ne Duma, ne Esani, ne Yaniimu, ne Beti Tappuwa, ne Afeki, ne Hutama, ne Kiriyati Aruba oba Heburooni, ne Ziyori: ebibuga mwenda n'ebyalo ebibyetoolodde. Waaliwo Mawoni, ne Karumeeli, ne Zifu, ne Yutta ne Yezireeli, ne Yokudeyaamu, ne Zanowa, ne Kayini, ne Gibeya, ne Timuna; ebibuga kkumi n'ebyalo ebibyetoolodde. Waaliwo Haluhuli, ne Betizuuri, ne Gedori, ne Maarati, ne Betanooti, ne Elutekoni: ebibuga mukaaga n'ebyalo ebibyetoolodde. Waaliwo Kiriyati Baali oba Kiriyati Yeyariimu, ne Rabba, ebibuga bibiri n'ebyalo ebibyetoolodde. Mu ddungu, waaliyo Beti Araba, ne Middini, ne Sekaka, ne Nibusaani, n'ekibuga eky'Omunnyo, ne Engedi: ebibuga mukaaga n'ebyalo ebibyetoolodde. Naye bazzukulu ba Yuda ne batasobola kugoba Bayebusi mu Yerusaalemu n'okutuusa kati. Ensalo ey'omu bukiikaddyo ey'ekitundu ekyaweebwa bazzukulu ba Yosefu mu kalulu, yatandikira ku Mugga Yorudaani okumpi ne Yeriko ebuvanjuba w'ensulo z'amazzi ez'e Yeriko, n'eraga mu ddungu. N'egenda okuva e Yeriko okwambuka mu nsi ey'ensozi, okutuuka e Beteli. Okuva e Beteli n'eraga e Luuzi, ng'eyitira ku Atarooti Addari, ensi y'Abaruki. Awo ensalo n'ekka ku ludda olw'ebugwanjuba, okutuuka ku nsalo n'Abayafuleeti, okutuukira ddala ku kitundu ky'e Betooroni ekya wansi. Okuva awo ne yeeyongerayo okutuuka e Gezeri, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Bazzukulu ba Yosefu, abasibuka mu Efurayimu ne Manasse, ne bafuna ekitundu ekyo kibeerenga kyabwe. Kino kye kitundu ab'ennyumba z'abazzukulu ba Efurayimu kye baafuna: ensalo yaabwe yava ku Atarooti Addari ku ludda olw'ebuvanjuba, okutuuka ku Betooroni eky'engulu. Okuva awo n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Mikumetati kyabali mu bukiikakkono. Ku ludda olw'ebuvanjuba, ensalo n'ekyuka okwolekera Taanati Siilo, n'ekiyitako ku ludda olw'ebuvanjuba, n'eraga e Yanowa. N'eva ku Yanowa, n'ekiika ku Atarooti ne Naara, n'etuuka ku Yeriko, n'ekoma ku Yorudaani. Ensalo n'egenda ebugwanjuba okuva ku Tappuwa, okutuuka ku Mugga Kaana, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Ekyo kye kitundu ekyaweebwa ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Efurayimu ebeerenga eyaabwe, wamu n'ebibuga n'ebyalo ebimu, ebyali mu kitundu kya bazzukulu ba Manasse, naye ekyaweebwa Abeefurayimu. Kyokka tebaagobamu Bakanaani abaali mu Gezeri. Awo Abakanaani ne babeera wamu n'Abeefurayimu n'okutuusa kati, era ne bafuuka abaddu okukolanga emirimu egibalagirwa. Mu kalulu, ab'Ekika kya Manasse omwana wa Yosefu omuggulanda, ne baweebwa ekitundu kibe ekyabwe. Makiri, kitaawe wa Gileyaadi, era omwana wa Manasse omuggulanda, yali muzira mu ntalo kyeyava aweebwa Gileyaadi ne Basani. Era mu kalulu, ekitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani ne kiweebwa ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Manasse abalala: Abiyezeeri, ne Heleki, ne Asuriyeeli, ne Sekemu, ne Heferi, ne Semida. Abo be bazzukulu ab'obulenzi aba Manasse mutabani wa Yosefu, abakulu b'ennyumba. Zelofehaadi mutabani wa Heferi, azaalibwa Gileyaadi, omwana wa Makiri, mutabani wa Manasse, teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala bokka. Amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa, ne Hogula, ne Milika, ne Tiruza. Abo ne bagenda eri Eliyazaari kabona n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni n'eri abakulembeze, ne bagamba nti: “Mukama yalagira Musa okutuwa mu bannyinaffe ettaka okuba eryaffe.” Kyebaava baweebwa ettaka mu bannyinaabwe nga Mukama bwe yalagira. Bw'atyo Manasse n'afuna ebitundu kkumi ebyeyongera ku Gileyaadi ne Basani ebiri ku ludda lwa Yorudaani olw'ebuvanjuba. Yafuna ebyo byonna kubanga ne bazzukulu be abawala nabo baaweebwa ettaka. Ensi ey'e Gileyaadi yali yaweebwa dda bazzukulu ba Manasse abalala. Ekitundu kya Manasse kyava ku Aseri okutuuka ku Mikumetati ebuvanjuba bwa Sekemu. Ensalo n'egenda mu bukiikaddyo, okuzingiramu abantu b'e Entappuwa. Ekitundu ekyetoolodde Tappuwa kyaba kya Manasse, naye ekibuga Tappuwa ku nsalo, ne kiba kya Efurayimu. Kale ensalo n'ekka okutuuka ku Mugga Kaana. Ebibuga eby'omu bukiikakkono obw'omugga, byali bya Efurayimu, newaakubadde nga byali mu kitundu kya Manasse. Ensalo ya Manasse yayita ku ludda olwa kkono olw'omugga, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Efurayimu yali ku ludda olw'ebukiikaddyo, Manasse n'aba ku ludda olw'ebukiikakkono, ng'Ennyanja Eyaawakati ye nsalo yaabwe mu bugwanjuba. Ne batuuka ku Aseri ku ludda olw'ebukiikakkono ku ludda olw'ebuvanjuba. Mu kitundu kya Yissakaari n'ekya Aseri, Manasse n'afunayo Beti Saani ne Yibuleyaamu, n'ebyalo ebibyetoolodde, ne Doori, ne Endori, ne Taanaki, ne Megiddo n'ebyalo ebibyetoolodde. Naye bazzukulu ba Manasse ne batasobola kugobamu bantu abaali mu bibuga ebyo. Kale Abakanaani ne bongera okubeera mu nsi eyo. Abayisirayeli ne bwe beeyongera amaanyi, ne batagobaamu Bakanaani bonna, wabula ne babawalirizanga okubakolera emirimu. Bazzukulu ba Yosefu ne bagamba Yoswa nti: “Lwaki otuwadde omugabo gumu gwokka ogw'ettaka okuba ogwaffe, ate nga Mukama yatuwa omukisa ne tuba bangi nnyo?” Yoswa n'addamu nti: “Oba nga muli bangi nnyo, ng'ensi ya Efurayimu ey'ensozi tebamala, mugende mu bibira mwesaayire omwo, mu nsi y'Abaperezi n'Abareefa.” Bazzukulu ba Yosefu ne baddamu nti: “Ne bwe tunaakola bwe tutyo, era ensi ey'ensozi tetumala. Ate tetusobola kusenga mu nsenyi kubanga Abakanaani abali mu Beti Saani n'ebyalo ebikyetoolodde, n'abo abali mu Kiwonvu ky'e Yezireeli, balina amagaali ag'ebyuma.” Yoswa n'agamba ab'ennyumba ya Yosefu, bye bika ekya Efurayimu n'ekya Manasse nti: “Nga bwe muli abangi ennyo era ab'amaanyi, temujja kufuna mugabo gumu. Ensi yonna ey'ensozi eneeba yammwe. Newaakubadde nga ya kibira, mujja kukisaawa, kibe kyammwe okuva ku nsonda emu okutuuka ku ndala, era Abakanaani mulisobola okugibagobamu newaakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma era nga ba maanyi.” Abayisirayeli bwe baamala okuwangula ensi ye Kanaani, ekibiina kyabwe kyonna ne kikuŋŋaanira e Siilo, ne basimba Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Mu Bayisirayeli waali wakyasigaddewo ebika musanvu ebitannafuna mugabo gwabyo ogw'ettaka. Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Muligayaala kutuusa ddi, ne mutagenda kwefunira nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa mmwe? Mwerondemu abasajja basatu mu buli kika, mbatume bagende balambule ensi eyo yonna, bapime nga bw'eyinza okugabanyizibwamu, balyoke bakomewo gye ndi. Ensi eyo ejja kugabanyizibwamu ebitundu musanvu. Yuda ajja kusigala mu kitundu kye, ku ludda olw'ebukiikaddyo, n'ab'ennyumba ya Yosefu mu kitundu kyabwe, ku ludda olw'ebukiikakkono. Muwandiike ebinnyonnyola ku bitundu ebyo omusanvu, mundeetere bye muwandiise, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama, Katonda waffe. Naye Abaleevi tebajja kufuna mugabo gwa ttaka mu mmwe, kubanga omugabo ogwabwe, kwe kuweereza Mukama mu bwakabona. Ate Gaadi ne Rewubeeni n'ekitundu eky'Ekika kya Manasse baamala dda okuweebwa ebitundu ebyabwe ebuvanjuba bwa Yorudaani, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa.” Awo abasajja ne basituka ne bagenda, okupima ensi eyo, nga Yoswa amaze okubalagira nti: “Mugende mulambule ensi eyo yonna, muwandiike ebinnyonnyola nga bw'efaanana, mukomewo gye ndi, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siilo.” Abasajja ne bagenda ne bayitaayita mu nsi eyo, ne bawandiika mu kitabo nga bwe bagigabanyizzaamu ebitundu omusanvu, nga balaga n'ebibuga byabyo. Awo ne baddayo eri Yoswa mu lusiisira e Siilo. Yoswa n'abakubira obululu mu maaso ga Mukama e Siilo. Buli kika kya Yisirayeli ekyali kitannagabana, n'akiwa omugabo ogwakyo ogw'ettaka. Ekitundu ekyaweebwa ennyumba z'ab'omu Kika kya Benyamiini, kye kyasooka okulondebwa mu kalulu. Ekitundu kyabwe ne kiba wakati w'Ekika kya Yuda n'Ekika kya Yosefu. Mu bukiikakkono, ensalo yaabwe yatandikira ku Yorudaani, n'eyambuka ku njegoyego za Yeriko mu bukiikakkono, n'eyambuka mu nsi ey'ensozi ku ludda olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku ddungu ly'e Betaaveni. Okuva awo ensalo n'egenda mu bukiikaddyo, n'eyita kumpi ne Luuzi, era ekiyitibwa Beteli, n'ekka okutuuka ku Atarooti Addari, kumpi n'olusozi oluli mu bukiikaddyo obwa Betooroni, ekiri emmanga. Ensalo n'ekyukira ku ludda olulala, n'eva mu bukiikaddyo, n'edda ebugwanjuba bw'olusozi Betooroni, n'eraga ku Kiriyati Baali oba Kiriyati Yeyariimu, ekibuga eky'ab'Ekika kya Yuda. Eyo ye yali ensalo y'Ababenyamiini mu bugwanjuba. Ensalo mu bukiikaddyo, yatandikira ku njegoyego za Kiriyati Yeyariimu, n'eraga ebugwanjuba ku nzizi z'e Nafutowa. Awo n'ekka mu Kiwonvu kya Hinnomu mu bukiikaddyo obw'ensozi z'Abayebusi, n'ekka ku Enurogeli. N'ewetamu n'eyolekera mu bukiikakkono ku Ensemesi, n'etuuka e Gelilooti, ekitunuulidde ekkubo eryambuka e Adummimu, n'eryoka etuuka ku jjinja lya Bokani, mutabani wa Rewubeeni, n'eyita ku ludda olw'ebukiikakkono ku nsozi ezitunuulidde Ekiwonvu kya Yorudaani, n'ekka mu kiwonvu ekyo, n'eyita ku nsozi z'e Beti Hogula ku ludda olw'ebukiikaddyo. Omugga Yorudaani gwe gwali ensalo ey'ebuvanjuba ey'ekitundu ekyagabanibwa ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Benyamiini, okuba ekyabwe. Ebibuga by'ab'ennyumba z'ab'Ekika kya Benyamiini byali Yeriko, ne Beti Hogula, ne Emeki Kezizi, ne Beti Araba, ne Zemarayimu, ne Beteli, ne Avvimu, ne Para, ne Ofura, ne Kefarammoni, ne Ofuni, ne Geeba: ebibuga kkumi na bibiri wamu n'ebyalo ebibyetoolodde. Era waaliwo Gibiyoni, ne Raama, ne Beeroti, ne Mizupa, ne Kefira, ne Moza, ne Rekemu, ne Yirupeeli, ne Tarala, ne Zela, ne Elefu, ne Yebusi oba Yerusaalemu, ne Gibeya, ne Kiriyati Yeyariimu, ebibuga kkumi na bina, wamu n'ebyalo ebibyetoolodde. Ekyo kye kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Benyamiini kye baafuna okuba ekyabwe. Akalulu akookubiri kaagabira ba nnyumba z'ab'omu Kika kya Simyoni ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyali wakati w'ekyo ab'Ekika kya Yuda kye baafuna. Kyalimu Beruseba, ne Seba, ne Molada, ne Azari Suwali, ne Bala, ne Ezemu, ne Elutoladi, ne Betuli, ne Oruma, ne Zikulagi, ne Beti Marikabooti, ne Azari Susa, ne Beti Lebawooti ne Sarukeni: ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo. Waaliwo Ayini ne Rimmoni, ne Eteri ne Asani: ebibuga bina n'ebyalo byabyo, wamu n'ebyalo byonna ebibyetoolodde okutuuka ku Baalati Beera oba Raama, mu bukiikaddyo. Kino kye kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Simyoni kye baafuna okuba ekyabwe. Ekitundu ekyaweebwa ab'omu Kika kya Yuda nga bwe kyali kibayitiriddeko obunene, n'ab'omu kika kya Simyoni kwe baafuna omugabo ogwabwe. Akalulu akookusatu ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Zebbulooni ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyatuuka ku Saridi. Okuva awo ensalo yaabwe yalaga bugwanjuba e Mareyali, n'ekoma ku Dabbeseti, ne ku mugga oguli ebuvanjuba bwa Yokuneyaamu. Ku ludda olulala olwa Saridi, ensalo yalaga mu buvanjuba okutuuka ku nsalo y'e Kisulooti Tabori, ne ku Daberaati, n'eyambuka e Yafiya, ne yeeyongerayo mu buvanjuba, n'etuuka ku Gaati Heferi, ne ku Etukazini, n'ekoma ku Rimmoni okutuuka ku Neya. Ne yeetooloola ku luuyi olw'ebukiikakkono n'ekyuka okwolekera Hamatoni, n'ekoma ku Kiwonvu Yifutaheli. N'ezingiramu Kattati, ne Nakalali, ne Simurooni, ne Yidala, ne Betilehemu: ebibuga kkumi na bibiri n'ebyalo ebibyetoolodde. Ebibuga bino n'ebyalo byabyo byali mu kitundu ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Zebbulooni kye baafuna okuba ekyabwe. Akalulu akookuna ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Yissakaari ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyalimu Yezireeli, ne Kesulooti, ne Sunemu, ne Hafarayimu ne Siyooni, ne Anakarati, ne Rabbiti, ne Kisiyooni ne Ebezi, ne Remeti ne Engannimu, ne Enuhadda, ne Betupazzezi. Ensalo era n'ekoona ku Tabori ne Sahazuma, ne Betisemesi, n'ekoma ku Yorudaani, bye bibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo ebibyetoolodde. Ebibuga bino n'ebyalo byabyo, byali mu kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Yissakaari kye baafuna okuba ekyabwe. Akalulu akookutaano ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Aseri ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyalimu Helukati ne Ali, ne Beteni, ne Akusafu, ne Alamu Meleki, ne Amadi, ne Misali, n'ekituuka ku Karumeeli ne Sihori Libunati, ku ludda olw'ebugwanjuba. Ensalo yaabwe n'ewetera ku ludda olw'ebuvanjuba, n'etuuka ku Betudagoni, n'ekoona ku Zebbulooni, ne ku Kiwonvu Yifutaheli, n'eyolekera Betemeki ne Neyeli mu bukiikakkono. Ne yeeyongerayo e Kabuli mu bukiikakkono, ne Heburooni, ne Rehobu, ne Ammoni, ne Kaana, okutuukira ddala e Sidoni. Ensalo n'eweta okwolekera Raama, n'etuuka ku kibuga Tiiro ekiriko ekigo, n'eweta okwolekera Osa, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Yazingiramu Makalabu ne Akuzibu ne Wumma ne Afeki ne Rehobu: bye bibuga amakumi abiri mu bibiri n'ebyalo byabyo. Ebibuga bino n'ebyalo byabyo byali mu kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Aseri kye baafuna okuba ekyabwe. Akalulu ak'omukaaga ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Nafutaali ekitundu ekyabwe. Ensalo yaabwe yava ku Helefu, n'etuuka ku muvule ogw'e Zaanannimu, ne yeeyongerayo mu Adaminekebu ne Yabuneeli, okutuuka ku Lakkumu, n'ekoma ku Yorudaani. Awo ensalo n'eweta okwolekera oludda olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku Azunooti Tabori, n'eva eyo n'etuuka e Hukoki, n'ekoona ku Zebbulooni ku ludda olw'ebukiikaddyo, ne ku Aseri ku ludda olw'ebugwanjuba, ne ku Yorudaani ku ludda olw'ebuvanjuba. Ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddiimu ne Zeri, ne Hammati, ne Rakkati, ne Kinnereti, ne Adaama, ne Raama, ne Hazori, ne Kedesi, ne Edereyi, ne Enuhaazori, ne Yirooni, ne Migudaleli, ne Horemu, ne Betanaati, ne Betisemesi: bye bibuga kkumi na mwenda n'ebyalo ebibyetoolodde. Ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo byali mu kitundu, ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Nafutaali kye baafuna okuba ekyabwe. Akalulu ak'omusanvu ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Daani ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyalimu Zora, ne Esutawoli, ne Yirusemesi, ne Saalabbini, ne Ayalooni, ne Yetula, ne Eloni, ne Timuna, ne Ekurooni, ne Eluteke, ne Gibbetooni, ne Baalati, ne Yekudi, ne Beneberaki, ne Gaturimmoni, ne Meyarukooni ne Rakkooni, wamu n'ekitundu ekyetoolodde Yaafo. Awo ab'omu Kika kya Daani bwe baafiirwa ekitundu kyabwe, ne bagenda e Layisi, ne bakirumba ne bakirwanyisa, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu bonna, ne bakituuma erinnya Daani, erya jjajjaabwe. Ebibuga bino n'ebyalo byabyo byali mu kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Daani kye baafuna. Abayisirayeli bwe baamala okugabanyaamu ensi ebitundu, buli bamu ne bafuna ebyabwe, awo ne balyoka bawa Yoswa mutabani wa Nuuni ekitundu okuba ekikye. Nga Mukama bwe yalagira, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, eky'e Timunati Seera, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. N'akizimba buggya, n'abeera omwo. Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulu b'ennyumba z'ab'omu bika bya Yisirayeli, baagabanya ebitundu bino eby'ensi, nga bakuba obululu mu maaso ga Mukama e Siilo, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi. Mukama n'agamba Yoswa okutegeeza Abayisirayeli nti: “Mulonde ebibuga eby'okuddukirangamu bye nalagira Musa okubategeezaako. Oyo anaabanga asse omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga eyo okuwona oyo amunoonya okuwoolera eggwanga. Anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'agenda mu kifo awasalirwa emisango, ku mulyango gw'ekibuga, n'annyonnyola abakulembeze ebibaddewo. Awo banaamukkirizanga okuyingira mu kibuga, ne bamuwa ekifo aw'okubeera, n'abeera omwo. Oyo anoonya okuwoolera eggwanga bw'anaamugobererangayo, ab'omu kibuga ekyo, tebaamuwengayo mu mikono gye. Banaakuumanga eyatta, kubanga omuntu yamutta nga tagenderedde, naye nga si lwa kumukyawa. Eyatta omuntu anaasigalanga mu kibuga omwo okutuusa ng'amaze okuwozesebwa mu maaso g'ekibiina ky'abantu, era okutuusa nga Ssaabakabona abeerawo mu nnaku ezo amaze okufa. Olwo omuntu oyo n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe gye yadduka.” Ku ludda olw'ebugwanjuba olw'Omugga Yorudaani, ne balonda Kedesi eky'omu Galilaaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, ne Heburooni mu nsi ey'ensozi eya Yuda. Ku ludda olw'ebuvanjuba olw'Omugga Yorudaani, ne balonda Bezeri eky'ab'Ekika kya Rewubeeni, ekiri mu lusenyi olw'eddungu mu buvanjuba bwa Yeriko, ne Ramoti eky'ab'Ekika kya Gaadi mu Gileyaadi, ne Golani eky'ab'Ekika kya Manasse mu Basani. Bino bye byali ebibuga eby'okuddukirangamu, ebyalondebwa Abayisirayeli bonna na buli mugwira abeera mu bo, buli attanga omuntu nga tagenderedde, addukirenga omwo, aleme okuttibwa oyo amunoonya okuwoolera eggwanga, okutuusa ng'amaze okuwoleza mu maaso g'ekibiina ky'abantu. Awo abakulu b'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Leevi, ne bagenda eri Eleyazaari kabona, n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n'eri abakulu b'ennyumba z'ab'omu bika byonna ebya Yisirayeli. Ne babagambira mu Siilo mu nsi y'e Kanaani nti: “Mukama yalagira ng'ayita mu Musa okutuwa ebibuga eby'okubeerangamu, n'ettale lyakwo ery'okulundirangamu ensolo zaffe.” Awo Abayisirayeli ne bawa Abaleevi ebibuga ebimu n'ettale lyakwo, mu bitundu byabwe, nga Mukama bwe yalagira. Abaleevi ab'ennyumba ya Kohati be baasooka okuweebwa ebibuga mu kalulu. Abasibuka mu Arooni kabona, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yuda n'ekya Simyoni n'ekya Benyamiini. Abakohati abalala ne baweebwa ebibuga kkumi okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Efurayimu n'ekya Daani n'ekya Manasse. Ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yissakaari n'ekya Aseri n'ekya Nafutaali n'ekya Manasse mu Basani. Ab'ennyumba ya Merari ne baweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva mu bitundu eby'Ebika: ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekya Zebbulooni. Abayisirayeli baakuba bululu okuwa Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyakwo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa. Gano ge mannya g'ebibuga ebyaggyibwa mu bitundu bya Yuda ne Simyoni ne biweebwa bazzukulu ba Arooni, ab'ennyumba ya Kohati ow'omu Kika kya Leevi. Be baasooka okukubirwa akalulu. Ne babawa Kiriyati Aruba (Aruba ye yali kitaawe wa Anaki), kati ekiyitibwa Heburooni, mu nsi ey'ensozi eya Yuda, awamu n'ettale lyakwo. Naye ennimiro z'ekibuga ekyo n'ebyalo byakyo byali byaweebwa dda Kalebu, mutabani wa Yefunne okuba ebibye. Okwongereza ku Heburooni, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu, bino bye bibuga ebyaweebwa bazzukulu ba Arooni kabona: Libuna, ne Yattiri, ne Esutemowa, ne Holoni, ne Debiri, ne Ayini, ne Yutta, ne Beti Semesi, wamu n'ettale lyabyo. Ebyo bye bibuga omwenda, ebyaggyibwa ku Bika, ekya Yuda n'ekya Simyoni. Okuva mu kitundu kya Benyamiini, baaweebwa ebibuga bina: Gibiyoni ne Geeba ne Anatooti ne Alumoni n'ettale lyakwo. Ebibuga kkumi na bisatu byonna awamu bye byaweebwa bakabona, bazzukulu ba Arooni. Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Kohati ne baweebwa mu kalulu ebibuga, mu kitundu kya Efurayimu. Baaweebwa ebibuga bina: Sekemu n'ettale lyakwo, ekimu ku bibuga eby'okuddukiramu mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ne Gezeri ne Kibuzayimu, ne Betooroni n'ettale lyabyo. Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Daani: Eluteke, ne Gibbetooni ne Ayalooni, ne Gaturimmoni n'ettale lyabyo. Ne baweebwa ebibuga bibiri mu kitundu kya Manasse: Taanaki ne Gaturimmoni n'ettale lyabyo. Ebibuga byonna ab'ennyumba ya Kohati abalala bye baafuna byali kkumi, wamu n'ettale lyabyo. Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa mu kitundu kya Manasse ebibuga bibiri: Goloni ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Basani, ne Beesutera, wamu n'ettale lyabyo. Ne baweebwa mu kitundu kya Yissakaari ebibuga bina: Kisiyooni ne Daberaati ne Yarumuti ne Engannimu, wamu n'ettale lyabyo. Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Aseri: Misali ne Abudooni, ne Elukati ne Rehobu, wamu n'ettale lyabyo. Ne baweebwa ebibuga bisatu mu kitundu kya Nafutaali: Kedesi, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Galilaaya, ne Hammoti Doori, ne Karutaani, wamu n'ettale lyabyo. Ab'ennyumba ya Gerusooni bonna awamu, baafuna ebibuga kkumi na bisatu wamu n'ettale lyabyo. Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Merari, ne baweebwa mu kitundu kya Zebbulooni ebibuga bina: Yokuneyaamu ne Karuta, ne Dimuna, ne Nahalali, wamu n'ettale lyabyo. Ne baweebwa mu kitundu kya Rewubeeni ebibuga bina: Bezeri ne Yahazi, ne Kedemooti ne Mefaati, wamu n'ettale lyabyo. Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Gaadi: Ramoti, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Gileyaadi, ne Mahanayimu, ne Hesubooni, ne Yazeri, wamu n'ettale lyabyo. Bwe batyo ab'ennyumba ya Merari bonna awamu, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri. Mu bitundu byonna Abayisirayeli bye baafuna okuba ebyabwe, Abaleevi baaweebwamu ebibuga amakumi ana mu munaana, wamu n'ettale lyabyo eribyetoolodde. Ebibuga ebyo byonna bwe byali bwe bityo nga birina ettale eribyetoolodde. Bw'atyo Mukama bwe yawa Abayisirayeli ensi yonna, gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe. Ne bagyefuga, ne bagibeeramu. Mukama n'abawa emirembe ku nsalo zaabwe zonna, nga bwe yasuubiza bajjajjaabwe. Tewali n'omu ku balabe baabwe bonna eyasobola okuyimirira mu maaso gaabwe, kubanga Mukama yawa Abayisirayeli okuwangula abalabe baabwe bonna. Tewali kirungi na kimu Mukama kye yasuubiza Yisirayeli ekyabulako: byonna byatuukirira. Awo Yoswa n'ayita ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse, n'abagamba nti: “Mukoze byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira okukola, era muwulidde ebiragiro byange byonna. Ebbanga lino lyonna temulekererangako Bayisirayeli bannammwe, naye mutuukirizza bulungi ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe. Kaakano Mukama Katonda wammwe awadde Bayisirayeli bannammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. N'olwekyo muddeeyo ewammwe mu kitundu Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa okuba ekyammwe mu buvanjuba bwa Yorudaani. Mutuukirizenga bulungi amateeka n'ebiragiro, Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okukolanga byonna by'ayagala, n'okukwatanga amateeka ge, n'okubeeranga abeesigwa gy'ali, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna.” Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasiibula ne baddayo ewaabwe. Ekitundu ekimu eky'Ekika kya Manasse, Musa yali akiwadde ettaka mu Basani ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Yorudaani, ate ekitundu ekirala Yoswa ng'akiwadde ku ludda Olw'ebugwanjuba bwa Yorudaani, wamu n'ebika ebirala. Yoswa n'asiibula ebika ebyo ng'abagamba nti: “Muddayo ewammwe nga muli bagagga nnyo: nga mulina amagana g'ente ne ffeeza, ne zaabu, n'ebikomo n'ebyuma n'engoye nnyingi. Mugabane ne baganda bammwe, ebyo bye mwanyaga ku balabe bammwe.” Awo ne baddayo ewaabwe. Awo ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse ne baddayo ewaabwe, ne baleka Abayisirayeli abalala mu Siilo, mu nsi y'e Kanaani, ne bagenda mu nsi yaabwe, ey'e Gileyaadi, gye baaweebwa okuba eyaabwe, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa. Awo ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse, bwe baatuuka e Gelilooti, ekiriraanye Omugga Yorudaani mu nsi y'e Kanaani, ne bazimba awo alutaari ennene, esikiriza okulaba. Awo Abayisirayeli abalala ne bawulira abantu nga bagamba nti: “Laba, ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse bazimbye alutaari e Gelilooti, ku ludda lwaffe olwa Yorudaani.” Abayisirayeli bwe baakiwulira, bonna ne bakuŋŋaanira e Siilo, bagende babalwanyise. Awo Abayisirayeli ne batuma Finehaasi, mutabani wa Eleyazaari kabona, eri ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse mu nsi y'e Gileyaadi. N'agenda n'abakulembeze kkumi, abaava mu buli kika kya Yisirayeli, era nga be bakulu b'ennyumba zaabwe. Ne bajja eri ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse mu nsi y'e Gileyaadi, ne boogerera ekibiina kya Mukama kyonna, ne babagamba nti: “Lwaki mukoze ekintu kino ekibi mu maaso ga Mukama Katonda wa Yisirayeli? Mujeemedde Mukama nga mwezimbira alutaari eno! Mumuvuddeko, temukyamugoberera! Era twongere ku kibi kye twakolera e Peyori, kye tutannaba na kwenaazaako n'okutuusa kaakano, newaakubadde nga Mukama yasindika kawumpuli mu bantu be? Mwagala kumuvaako leero? Singa mumujeemera olwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Yisirayeli kyonna. Naye kaakano oba ng'ensi yammwe tegwanira kusinzizaamu, mujje mu nsi ya Mukama omuli eweema ye, mwefunire ettaka mu ffe. Naye temujeemera Mukama, oba okutufuula abajeemu nga muzimba alutaari endala, ng'ate alutaari ya Mukama Katonda waffe weeri. Akani mutabani wa Zeera, bwe yagaana okuwulira ekiragiro ekifa ku bintu ebyali eby'okuzikiriza, ekibiina kyonna ekya Yisirayeli tekyabonerezebwa? Akani si ye yekka eyafa olw'ekibi kye.” Ab'Ekika ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse ne baddamu abakulu b'ennyumba z'Abayisirayeli abalala nti: “Mukama, ye Katonda Nnannyinibuyinza! Mukama, ye Katonda Nnannyinibuyinza! Ye amanyi, era nammwe twagala mumanye kye twakola. Ddala oba nga twakikola lwa bujeemu, na lwa kweggya ku Mukama, ku luno temutusaasira. Oba nga twazimba alutaari lwa kujeemera Mukama, tuleme kumugoberera, oba tulyoke tuweereko gy'ali ebitambiro ebyokebwa oba ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, oba ebiweebwayo olw'okutabagana, Mukama yennyini atubonereze. Nedda! Twakikola kubanga twatya nti gye bujja, bazzukulu bammwe bandigamba abaffe nti: ‘Mulina nkolagana ki ne Mukama, Katonda wa Yisirayeli? Mukama yafuula Yorudaani ensalo wakati waffe nammwe Abarewubeeni n'Abagaadi. Temulina kye mugabana wa Mukama.’ Bwe batyo bazzukulu bammwe bandiresezzaayo bazzukulu baffe okusinza Mukama. Kale kyetwava tuzimba alutaari, si lwa kwokerako bitambiro, oba okuweerako ebiweebwayo, naye twagizimba, ebe obujulizi obulaga abantu baffe n'abammwe, era n'ab'omu mirembe egirituddirira nti ddala tusinza Mukama, era tuwaayo mu maaso ge ebiweebwayo olw'okutabagana, bazzukulu bammwe baleme kugamba bazzukulu baffe gye bujja nti: ‘Temulina kye mugabana wa Mukama.’ Twalowooza nti bwe balitugamba bwe batyo, oba bwe baligamba bwe batyo bazzukulu baffe gye bujja, tuligamba nti: ‘Mulabe alutaari bajjajjaffe gye baakola ng'efaananira ddala alutaari ya Mukama. Baagikola, si lwa biweebwayo ebyokebwa, oba lwa bitambiro, naye ebe obujulizi wakati waffe nammwe.’ Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, oba okulekera awo okumugoberera, ne tuzimba alutaari okuweerako ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, oba ebitambiro. Ekyo tetuyinza kukikola nga waliwo alutaari ya Mukama Katonda waffe mu maaso g'Eweema ye.” Awo Finehaasi kabona, n'abakulembeze b'ekibiina, abakulu b'ennyumba za Yisirayeli abaali naye, bwe baawulira ebigambo ab'omu Bika ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse bye bagambye, ne basanyuka nnyo. Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona n'abagamba nti: “Kaakano tutegedde nga Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temwamujeemera. Muwonyezza Abayisirayeli okubonerezebwa Mukama.” Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona n'abakulembeze, ne bava mu nsi y'e Gileyaadi gye baasisinkanira Abarewubeeni n'Abagaadi, ne baddayo mu nsi y'e Kanaani eri Abayisirayeli, ne babategeeza ebibaddewo. Abayisirayeli ne basanyuka, ne batendereza Katonda, ne bataddayo kwogera ku bya kugenda kulwanyisa Barewubeeni na Bagaadi, n'okuzikiriza ensi mwe babeera. Abarewubeeni n'Abagaadi ne batuuma alutaari eyo erinnya “Obujulizi”, nga bagamba nti: “Eno bwe bujulizi obutulaga nti Mukama ye Katonda.” Bwe waayitawo ekiseera kiwanvu, Mukama n'awonya Abayisirayeli abalabe baabwe bonna ababeetoolodde. Mu kiseera ekyo, Yoswa yali akaddiye nnyo. Kyeyava ayita Abayisirayeli bonna, abakulu n'abakulembeze, n'abalamuzi, n'abakungu baabwe, n'abagamba nti: “Nze nkaddiye. Mpise mu myaka mingi. Mulabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku mawanga gonna gonna ku lwammwe. Mukama Katonda wammwe abadde abalwanirira mmwe. Ensi y'amawanga agakyasigaddewo, n'ey'amawanga gonna ge namala edda okuwangula, okuva ku Mugga Yorudaani mu buvanjuba, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba, ngiwadde ebika byammwe okuba eyaabyo. Mukama Katonda wammwe alisindiikiriza ab'amawanga ago, n'abazza emabega ku lwammwe, era alibagoba nga mmwe mulaba. Mulyefuga ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza mmwe. Kale munyiikire nnyo okukwatanga n'okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu Kitabo ky'Amateeka ga Musa, mulemenga kubivaako n'akatono, era mulemenga kwetaba na ba mawanga gano abasigadde mu mmwe, oba okukoowoolanga amannya ga balubaale baabwe, oba okugakozesanga nga mulayira, oba okusinza balubaale abo, wadde okubafukaamirira. Naye munywerere ku Mukama nga bwe mubadde mukola okutuusa kaakano. Mukama yagoba amawanga amanene era ag'amaanyi nga mulaba, era tewali muntu yayimirira mu maaso gammwe okutuusa kati. Omu mu mmwe anaagobanga lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye abalwanirira, nga bwe yabasuubiza. Kale, musseeyo nnyo omwoyo okwagalanga Mukama Katonda wammwe, kubanga bwe mulidda emabega, ne mwegatta n'ab'amawanga ago abaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwa nabo, mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga ba mawanga ago nga mulaba, naye banaabanga mutego n'ekyambika gye muli, n'obuswanyu mu mbiriizi zammwe, oba amaggwa mu maaso gammwe, okutuusa lwe muliggweerawo ddala mu nsi eno ennungi, Mukama Katonda wammwe gy'abawadde. “Mulabe, nze nnaatera okufa. Mwenna mumanyi bulungi mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe, nga Mukama abawadde ebirungi byonna bye yasuubiza. Buli kirungi kye yasuubiza akituukirizza. Tewali na kimu kibuzeeko. Naye nga bw'atuukirizza buli kirungi kye yabasuubiza, bw'atyo Mukama bw'alibatuusaako buli kabi konna, okutuusa lw'alibamalirawo ddala mu nsi eno ennungi gye yabawa. Bwe mutalikuuma ndagaano Mukama Katonda wammwe gye yabalagira okukuuma, ne mugenda ne muweereza balubaale, era ne mubafukaamirira, alibabonereza mu busungu bwe, ne muggwaawo mangu mu nsi eno ennungi gy'abawadde.” Awo Yoswa n'akuŋŋaanya ebika ebya Yisirayeli mu Sekemu. N'ayita abantu abakulu, n'abakulembeze, n'abalanzi, era n'abakungu ba Yisirayeli. Ne bajja mu maaso ga Mukama. Yoswa n'agamba abantu bonna nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Ewufuraate, ne basinzanga balubaale. Omu ku bajjajjammwe abo, ye Teera, kitaawe wa Aburahamu ne Nahori. Aburahamu jjajjammwe ne mmuggya emitala w'Omugga ogwo Ewufuraate, ne mmuyisa mu nsi yonna ey'e Kanaani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Yisaaka. Yisaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Ne mpa Esawu ensi Seyiri ey'ensozi okuba eyiye. Naye Yakobo n'abaana be, ne baserengeta e Misiri. Oluvannyuma ne ntuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye nakolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe. Naggya bajjajjammwe e Misiri, Abamisiri ne babawondera n'amagaali n'abeebagadde embalaasi. Naye bajjajjammwe bwe baatuuka ku Nnyanja Emmyufu, ne bankoowoola, Nze Mukama, mbayambe. Ne nteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Abamisiri ne mbayiwako ennyanja ne mbasaanyaawo. Mumanyi bye nakola ku Misiri. “ ‘Mwamala ekiseera kiwanvu mu ddungu. Awo ne mbaleeta mu nsi y'Abaamori, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'Omugga Yorudaani. Ne babalwanyisa mmwe. Naye mmwe ne mbawa okubawangula, ne mwefuga ensi yaabwe, bo ne mbazikiriza nga mmwe mulaba. Awo kabaka w'e Mowaabu, Balaki mutabani wa Zippori, n'abalwanyisa mmwe Abayisirayeli. N'atumya Balamu mutabani wa Bewori, n'amusaba okubakolimira. Naye ne ŋŋaana okuwuliriza ebya Balamu, kyeyava abasabira omukisa. Bwe ntyo ne mbawonya Balaki. Ne musomoka Omugga Yorudaani, ne mutuuka e Yeriko. Abantu b'e Yeriko ne babalwanyisa, ng'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abagirugaasi, n'Abahiivi, n'Abayebusi bwe baakola. Naye ne mbawa mmwe okubawangula abo bonna. Bwe mwali nga mutuuka, ne ndeeta mu bantu abo entiisa n'egoba bakabaka bombi ab'Abaamori. Tebyali bitala byammwe, wadde emitego gyammwe. Nabawa ensi gye mwali mutalimanga, n'ebibuga bye mwali mutazimbanga, ne mubibeeramu. Ne mulya ku mizabbibu ne ku mizayiti gye mutasimbanga.’ ” “Kale kaakano musseemu Mukama ekitiibwa, mumuweerezenga mu mazima awatali bukuusa. Era muggyeewo balubaale, bajjajjammwe be baasinzanga mu Mesopotaamiya ne mu Misiri, muweerezenga Mukama yekka. Era oba nga temwagala kumuweerezanga, mulondeewo olwaleero gwe munaaweerezanga: oba balubaale, bajjajjammwe be baaweerezanga mu Mesopotaamiya, oba balubaale b'Abaamori, ab'omu nsi gye mulimu kaakati. Naye nze n'ab'omu nnyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.” Abantu ne baddamu nti: “Kikafuuwe ffe okuva ku Mukama ne tuweereza balubaale! Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu buddu mu nsi y'e Misiri, ne tulaba ebyewuunyo bye yakola. Yatukuuma wonna gye twagendanga mu mawanga gonna ge twayitangamu. Bwe twali nga tujja mu nsi eno, Mukama n'agobamu Abaamori bonna abaagirimu. N'olwekyo tunaaweerezanga Mukama, kubanga ye Katonda waffe.” Yoswa n'agamba abantu nti: “Naye muyinza okulemwa okuweereza Mukama. Ye ye Katonda, era mutuukirivu. Kale taasonyiwenga bibi byammwe. Tagenda kukkiriza kuvuganyizibwa. Bwe munaamuvangako ne muweereza balubaale, anaabakyukiranga mmwe, n'ababonereza. Alibazikiriza, newaakubadde nga yasooka kubakolera birungi.” Abantu ne bagamba Yoswa nti: “Nedda, tunaaweerezanga Mukama.” Yoswa n'abagamba nti: “Muli bajulirwa bammwe mwennyini nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama.” Ne bagamba nti: “Tuli bajulirwa.” N'agamba nti: “Kale kaakano muggyeewo balubaale abagwira be mulina. Mukyusize ddala emitima gyammwe eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli.” Abantu ne bagamba Yoswa nti: “Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga. Ne by'alagira, tunaabituukirizanga.” Bw'atyo Yoswa n'akola endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera amateeka n'ebiragiro e Sekemu. Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu Kitabo eky'Amateeka ga Katonda. N'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omuvule mu kifo ekitukuvu ekya Mukama. N'agamba abantu bonna nti: “Ejjinja lino linaabanga mujulirwa waffe, kubanga liwulidde ebigambo byonna Mukama by'atugambye; kyerinaavanga liba omujulirwa abalumiriza mmwe, mulemenga okwegaana Katonda wammwe.” Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli omu n'adda mu kitundu kye yagabana okuba ekikye. Ebyo bwe byaggwa, omuweereza wa Mukama, Yoswa mutabani wa Nuuni, n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamuziika mu ttaka lye, lye yagabana e Timunati Seera, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ku ludda olw'ebukiikakkono obw'Olusozi Gaasi. Ebbanga lyonna Yoswa lye yamala nga mulamu, Abayisirayeli baaweereza Mukama. Era ne bongera okumuweereza ebbanga lyonna, ery'obulamu bw'abakulembeze abeerabirako n'agaabwe byonna Mukama bye yakolera Yisirayeli, era abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa. Amagumba ga Yosefu, Abayisirayeli ge baaleeta nga bava e Misiri, ne bagaziika e Sekemu, mu ttaka Yakobo lye yagula ebitundu bya ffeeza ekikumi ku batabani ba Hamori, kitaawe wa Sekemu. Ettaka eryo ne liba obusika bwa bazzukulu ba Yosefu. Eleyazaari mutabani wa Arooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finehaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Awo Yoswa ng'amaze okufa, Abayisirayeli ne babuuza Mukama nti: “Baani ababa basooka okugenda okulumba Abakanaani okubalwanyisa?” Mukama n'addamu nti “Ab'Ekika kya Yuda be baba basooka okugenda. Bo be mpadde okufuga ensi eyo.” Ab'Ekika kya Yuda ne bagamba ab'Ekika kya Simyoni nti: “Mujje tugende ffenna mu kitundu ekiweereddwa ffe tulwanyise Abakanaani nga tuli wamu. Era naffe bwe tutyo tuligenda nammwe mu kitundu ekiweereddwa mmwe.” Awo ab'Ekika kya Simyoni n'ab'ekya Yuda ne bagendera wamu mu lutalo. Mukama n'abawa okuwangula Abakanaani n'Abaperizi, ne babattamu abasajja omutwalo gumu e Bezeki. Ne basanga Adonibezeki mu Bezeki, ne bamulwanyisa. N'adduka, kyokka ne bamuwondera ne bamukwata, ne bamutemako engalo ze ensajja n'ebigere bye ebisajja. Adonibezeki n'agamba nti: “Bakabaka ensanvu be natemako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja baakuŋŋaanyanga obukunkumuka bw'emmere wansi w'emmeeza yange. Kaakano Katonda ansasudde ekyo kye nabakola.” Ne bamutwala e Yerusaalemu, era eyo gye yafiira. Awo ab'Ekika kya Yuda ne balumba Yerusaalemu, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu, ekibuga ne bakyokya omuliro. Bwe baava awo ne bagenda okulwanyisa Abakanaani ab'omu nsi ey'ensozi, ne mu bisenyi ne mu nsi enkalu ey'omu bukiikaddyo. Ne balumba Abakanaani abaali mu kibuga Heburooni, ekyayitibwanga Kiriyati Aruba, ne bawangula Abasesayi n'Abayimani n'Abatalumayi. Ab'ekika kya Yuda bwe baava eyo, ne balumba ekibuga ky'e Debiri, ekyayitibwanga Kiriyati Seferi. Omu ku bo ayitibwa Kalebu n'agamba nti: “Anaalumba n'awamba ekibuga Kiriyati Seferi nja kumuwa muwala wange Akasa amuwase.” Otiniyeeli mutabani wa Kenazi, muto wa Kalebu n'akiwamba. Kalebu n'amuwa muwala we Akasa amuwase. Ku lunaku olw'embaga ey'obugole bwabwe, Otiniyeeli n'akuutira Akasa okusaba kitaawe amuwe ennimiro. Awo Akasa n'ava ku ndogoyi ye, n'akka wansi. Kalebu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” Akasa n'agamba nti: “Nnyamba ompe n'enzizi z'amazzi, kubanga ensi gy'ompadde nkalu.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga. Bazzukulu b'Omukeeni, kitaawe wa muka Musa, ne bagenda wamu n'ab'Ekika kya Yuda okuva e Yeriko, ekibuga ky'enkindu, ne balaga mu nsi enkalu, eri mu bukiikaddyo obwa Aradi mu Buyudaaya. Ne basenga mu Bamaleki. Ab'omu Kika kya Yuda ne bagenda wamu n'ab'omu Kika kya Simyoni, ne bawangula Abakanaani abaali mu kibuga Zefati, ne bakizikiririza ddala, ne bakituuma erinnya Horuma. Ab'Ekika kya Yuda ne bawangula Gaaza ne Asikelooni ne Ekurooni, n'ebitundu ebibyetoolodde. Era Mukama n'abayamba ne bawamba ensi ey'ensozi. Naye ne batasobola kugobamu batuuze ab'omu bisenyi, kubanga abatuuze abo baalina amagaali ag'ebyuma. Ekibuga Heburooni ne kiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, Kalebu n'agobamu ab'ebika ebisatu eby'abazzukulu ba Anaki. Naye ab'Ekika kya Benyamiini ne batagoba Bayebusi mu Yerusaalemu. Okuva olwo Abayebusi ne bongera okukibeeramu awamu nabo n'okutuusa kati. Ab'omu Kika kya Efurayimu n'ab'omu Kika kya Manasse nabo ne balumba Beteli ekyali kiyitibwa Luuzi, Mukama n'abayamba. Ne batuma abakessi mu kibuga. Abakessi abo ne balaba omusajja akivaamu, ne bamugamba nti “Tulagirire mangu we tuyinza okuyita okuyingira mu kibuga, olwo naffe tetuukukoleko kabi”. N'abalagirira. Ne batta ab'omu kibuga bonna, okuggyako omusajja oyo n'ab'omu maka ge. Omusajja oyo n'agenda mu nsi y'Abahiiti n'azimbayo ekibuga, n'akituuma erinnya Luuzi. Era kikyayitibwa erinnya eryo n'okutuusa kati. Ab'omu Kika kya Manasse tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Beti Seyani ne Taanaki, ne Doori, ne Yibuleyani, ne Megiddo, n'ab'omu byalo ebibiriraanye, Abakanaani ne bongera okubeera mu nsi eyo. Awo Abayisirayeli bwe beeyongera okuba ab'amaanyi, ne bawaliriza Abakanaani okubakoleranga emirimu, naye ne batabagoberamu ddala. Ab'omu Kika kya Efurayimu tebaagobamu Bakanaani abaali mu kibuga Gezeri, Abakanaani ne bongera okubeeramu wamu nabo. Ab'omu Kika kya Zebbulooni tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Kituroni ne Nakalali, Abakanaani ne bongera okubibeeramu awamu nabo, ne bawalirizibwa okukoleranga Abayisirayeli emirimu. Ab'omu Kika kya Aseri tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Akko ne Sidoni, ne Alabu ne Akuzibu, wadde ab'omu Eluba ne Afeki ne Rehobu. Ab'omu Kika kya Aseri ne babeera wamu n'abatuuze Abakanaani, kubanga tebaabagobaamu. Ab'omu Kika kya Nafutaali ne batagobaamu batuuze ba mu bibuga Beti-Semani ne Beti-Anati. Ab'omu Kika kya Nafutaali ne bongera okubeera awamu n'abatuuze Abakanaani naye ne babawaliriza okubakoleranga emirimu. Abaamori baasindiikiriza ab'omu Kika kya Daani ne babazzaayo mu nsi ey'ensozi, ne batabakkiriza kukka mu lusenyi. Abaamori ne bongera okubeera mu Ayiyalooni, ne mu Saalubini, ne ku lusozi Eresi. Naye ab'omu Kika kya Efurayimu n'ab'omu Kika kya Manasse ne babakinako, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu. Okuva mu bukiikaddyo obwa Seela, ensalo y'Abaamori yayitiranga mu ntikko ya Akurabbimu. Awo Malayika wa Mukama n'ava e Gilugaali n'agenda e Bokimu, n'agamba Abayisirayeli nti: “Nabaggya mu nsi y'e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nasuubiza bajjajjammwe. Nagamba nti sirimenya ndagaano yange gye nakola nammwe. Temuukolenga ndagaano na bantu abali mu nsi eno. Mumenyewo alutaari zaabwe. Naye mmwe temukoze nga bwe nabalagira. Lwaki mujeemye? Kale kaakano mbagamba nti sirigobayo bantu abo nga mugendayo. Banaabanga balabe bammwe, era munaakemebwanga okusinza balubaale baabwe.” Malayika wa Mukama bwe yamala okwogera ebyo, Abayisirayeli bonna ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Bokimu, ne baweera eyo ebitambiro eri Mukama. Awo Yoswa n'asiibula Abayisirayeli ne bagenda, buli omu okufuna ekitundu ky'ensi kye yagabana. Abayisirayeli baaweerezanga Mukama ebbanga lyonna Yoswa lye yamala nga mulamu, era n'ebbanga lyonna, nga wakyaliwo abakulembeze, abaamusinga okuwangaala, abaalaba ku bikuuno byonna, Mukama bye yakolera Yisirayeli. Omuweereza wa Mukama, mutabani wa Nuuni, yafa ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamuziika mu kitundu kye, kye yagabana mu Timunati Sera, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, mu bukiikakkono obw'olusozi Gaasi. Era n'ab'omulembe ogwo bonna ne bafa. Ne waddawo ab'omulembe ogwaddirira, abataamanya Mukama, wadde ebyo bye yakolera Yisirayeli. Awo Abayisirayeli ne bakola ekyanyiiza Mukama, ne basinza Babbaali. Ne bava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne basinza balubaale, ab'abantu ababeetoolodde, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama. Mukama baamuvaako, ne baweereza Baali ne Asitarooti. Mukama n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'abawaayo eri abanyazi ne babanyagako ebyabwe. N'aleka abalabe baabwe bonna abaali babeetoolodde, ne babawangula, Abayisirayeli nga tebakyasobola kwetaasa. Buli lwe baagendanga mu lutalo, nga Mukama abaleetera akabi, nga bwe yali agambye okukola. Ne beeraliikirira nnyo! Mukama n'abawa abakulembeze okubawonya abanyazi. Naye Abayisirayeli ne batawuliriza bakulembeze baabwe. Ne bataba beesigwa eri Mukama, wabula ne basinza balubaale. Bajjajjaabwe baawuliranga ebiragiro bya Mukama, naye bano tebaakola bwe batyo. Mukama bwe yawanga Abayisirayeli omukulembeze, Mukama yayambanga omukulembeze oyo, era yabawonyanga abalabe baabwe, ebbanga lyonna omukulembeze lye yamalanga nga mulamu. Mukama yabakwatirwanga ekisa, kubanga baasindanga olw'okubonyaabonyezebwa n'okunyigirizibwa. Naye omukulembeze bwe yafanga, abantu baddanga mu mize gyabwe egy'edda, ne baba babi n'okusinga bajjajjaabwe. Baaweerezanga era baasinzanga balubaale, ne bagaana okulekayo empisa zaabwe embi. Awo Mukama n'asunguwalira nnyo Yisirayeli, n'agamba nti: “Ab'eggwanga lino bamenye endagaano gye nalagira bajjajjaabwe okukuumanga, era tebakyampulira. Kale nange okuva leero sikyagobyemu ba mawanga agaali gakyali mu nsi eno, Yoswa we yafiira. Nja kuyita mu bo okugeza Abayisirayeli, ndabe oba nga banaakwatanga, oba tebaakwatenga makubo gange, nga bajjajjaabwe bwe baagakwatanga.” N'olwekyo Mukama n'aleka ab'amawanga ago mu nsi eyo, n'atabagobaamu mangu era n'ataganya Yoswa kubawangula. Kale Mukama n'aleka ab'amawanga agamu okusigala mu nsi eyo okugeza Abayisirayeli abataalaba ku ntalo z'e Kanaani. Ekyo yakikola, nga ky'ayagala, kwe kuyigiriza eby'entalo Abayisirayeli aba buli mulembe, naddala abo abaali tebabeerangako mu lutalo. Abo abaalekebwa mu nsi eyo, be b'omu bibuga by'Abafilistiya ebitaano, n'Abakanaani bonna, n'Abasidoni n'Abahiivi, abatuuze b'omu nsozi z'omu Lebanooni okuva ku Lusozi Baali Herumooni, okutuuka awayingirirwa mu Hamati. Baali ba kugeza Bayisirayeli okulaba oba nga banaawuliranga ebiragiro bya Mukama, bye yalagira bajjajjaabwe, ng'ayita mu Musa. Abayisirayeli ne babeera mu Bakanaani n'Abahiiti, n'Abayebusi. Ne bawasa abakazi mu bantu abo, era ne bafumbizaamu bawala baabwe era ne basinzanga balubaale baabwe. Abayisirayeli ne beerabira Mukama, Katonda waabwe, ne bakola ebibi ne bamunyiiza, ne basinza balubaale Baali ne Asera. Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayeli, n'aleka Kusani Risatayimu, kabaka wa Mesopotaamiya okubawangula, n'abafugira emyaka munaana. Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama, n'abatumira omuntu eyabanunula, ye Otiniyeeli, mutabani wa Kalebu, muto wa Kenazi. Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye, n'akulembera Yisirayeli. N'agenda mu lutalo, Mukama n'amuwa okuwangula Kusani Risatayimu, kabaka wa Mesopotaamiya. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana. Otiniyeeli n'afa. Abayisirayeli ne baddamu okukola ebibi ne banyiiza Mukama. N'olwekyo Mukama n'awa Egulooni kabaka wa Mowaabu amaanyi okulwanyisa Yisirayeli. Egulooni ne yeegatta n'Abammoni n'Abamaleki, ne bawangula Yisirayeli, ne bawamba Yeriko, ekibuga eky'enkindu. Abayisirayeli ne bafugibwa Egulooni okumala emyaka kkumi na munaana. Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama, n'abatumira omuntu okubanunula, ye Ehudi mutabani wa Gera, Omubenyamiini. Ehudi oyo yali wankonokono. Abayisirayeli ne bakwasa Ehudi ebirabo abitwalire Egulooni kabaka wa Mowaabu. Ehudi yali yeeweeserezza ekitala eky'obwogi ku njuyi zombi, nga kiweza sentimita ng'amakumi ataano obuwanvu. N'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo, munda mu ngoye ze. N'atwalira Egulooni Kabaka wa Mowaabu ebirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo. Ehudi bwe yamala okuwaayo ebirabo, n'alagira abantu abaabyetikka baddeyo ewaabwe. Naye Ehudi kennyini n'akoma ku mayinja amoole agaali okumpi ne Gilugaali, n'addayo eri Egulooni, n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnina obubaka obw'okukuwa mu kyama.” Awo Kabaka n'alagira abaweereza be nti: “Mutuleke ffekka!” Bonna ne bava w'ali ne bafuluma. Kabaka bwe yali ng'atudde yekka mu kisenge kye ekiweweevu eky'okuwummuliramu ekya waggulu, Ehudi n'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Nnina obubaka bwo obuvudde eri Katonda.” Kabaka n'asituka ku ntebe ye. Ehudi n'akozesa omukono gwe ogwa kkono, n'aggyayo ekitala ku kisambi kye ekya ddyo, n'akifumita kabaka mu lubuto. Ekitala kyonna ne kimubuliramu n'ekiti kyakyo, amasavu ne gazibikira we kiyingiridde. Ehudi teyakisikaamu mu lubuto lwa kabaka, ne kiggukira emabega. Awo Ehudi n'afuluma n'amuggaliramu, enzigi n'azisiba, n'agenda. Abaweereza bwe bajja ne balaba ng'enzigi z'ekisenge ekyawaggulu nsibe, ne balowooza nti kabaka mw'ali yeeteewuluzaako mu kasenge akoomunda. Ne balindako ebbanga lye baalowooza nti limala. Bwe baalaba nga taggulawo, ne bakwata ekisumuluzo, ne baggulawo. Ne basanga mukama waabwe ng'agudde wansi afudde. Ehudi n'atoloka nga bakyalindirira. N'ayita mu mayinja amoole, n'atuuka gy'anaawonera e Seyira. Bwe yatuuka eyo mu nsi ya Efurayimu, n'afuuwa eŋŋombe okuyita Abayisirayeli. N'abakulembera, ne baserengeta wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi. N'agamba nti: “Mungoberere, Mukama abawadde okuwangula abalabe bammwe Abamowaabu.” Ne bagoberera Ehudi, ne baserengeta, ne beekwata ekifo Abamowaabu we baali ab'okusomokera Omugga Yorudaani, ne bataganya muntu n'omu kusomoka. Ku mulundi ogwo ne batta mu Bamowaabu abasajja nga omutwalo gumu ab'amaanyi era abazira, ne watabaawo awonawo. Ku lunaku olwo Abayisirayeli ne bawangula Mowaabu. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana. Omukulembeze eyaddirira, yali Samugaari, mutabani wa Anati. Naye yanunula Yisirayeli bwe yatta Abafilistiya lukaaga n'omuwunda. Ehudi bwe yamala okufa, Abayisirayeli ne baddamu okukola ebibi ne banyiiza Mukama. Mukama n'abaleka okuwangulwa Yabini, Kabaka wa Kanaani, eyafugiranga mu kibuga Azori. Omuduumizi w'eggye lye yali Sisera, ng'abeera mu Haroseti-Hagoyiimu. Yabini yalina amagaali lwenda ag'ebyuma, n'afuga Yisirayeli n'obukambwe okumala emyaka amakumi abiri. Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama abayambe. Mu biro ebyo, Debora muka Lappidoti, yali mulanzi, era nga mulamuzi wa Bayisirayeli. Yatuulanga wansi w'Olukindu lwa Debora, wakati wa Raama ne Beteli, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Eyo Abayisirayeli gye baagendanga gy'ali okubasalira emisango. Awo n'atumya Baraki mutabani wa Abinowamu mu Kibuga Kedesi eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli akulagidde nti: ‘Twala abasajja omutwalo gumu ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Tabori. Sisera omuduumizi w'eggye lya Yabini nja kumuleeta okukulwanyisa ku Mugga Kisoni. Ajja n'amagaali ge n'abaserikale be, kyokka nja kukusobozesa okumuwangula.’ ” Baraki n'amugamba nti: “Ggwe bw'onoogenda nange, kale nnaagenda. Naye bw'otoogende nange, sijja kugenda.” Debora n'addamu nti: “Mazima nja kugenda naawe. Naye ekitiibwa eky'obuwanguzi tekijja kuba kikyo, kubanga Mukama ajja kuwaayo Sisera awangulwe omukazi.” Awo Debora n'asituka, n'agenda ne Baraki e Kadesi. Baraki n'ayita ab'Ekika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni e Kadesi, abasajja omutwalo gumu, ne bamugoberera. Debora n'agenda wamu naye. Mu kiseera ekyo, Heberi Omukeeni yali yeeyawudde ku Bakeeni banne, bazzukulu ba Hobabu, kitaawe wa muka Musa, n'asimba eweema ye awali omuvule mu Zenannimu, okumpi n'e Kadesi. Sisera bwe baamubuulira nti Baraki, mutabani wa Abinowamu ayambuse ku Lusozi Tabori, Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna olwenda ag'ebyuma, ne basajja be bonna abaali naye, ne bava e Haroseti-Hagoyiimu, ne balaga ku Mugga Kisoni. Debora n'agamba Baraki nti: “Genda! Mukama akukulembedde. Olwaleero akuwadde okuwangula Sisera.” Awo Baraki n'akkirira olusozi Tabori wamu ne basajja be omutwalo gumu. Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna, n'eggye lye lyonna n'ebyokulwanyisa, mu maaso ga Baraki. Sisera n'ava mu ggaali ye, n'addusa bigere. Baraki n'awondera amagaali era n'eggye okutuuka mu Aroseti ekya Bannamawanga. Eggye lya Sisera lyonna ne littibwa. Ne watasigalawo muntu n'omu. Sisera n'addusa bigere n'atuuka ku weema ya Yayeli muka Heberi Omukeeni, kubanga Yabini Kabaka wa Azori yali mirembe n'ab'ennyumba ya Heberi. Yayeli n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti: “Mukama wange, yingira omwange totya.” Sisera n'ayingira mu weema. Yayeli n'amukweka mu lutimbe. Sisera n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mazzi nnyweko, kubanga ennyonta ennuma.” Yayeli n'asumulula ensawo ey'eddiba omubeera amata, n'amuwa n'anywa, n'amukweka nate. Sisera n'agamba Yayeli nti: “Yimirira mu mulyango gwa weema. Bwe wabaawo ajja n'akubuuza nti waliwo omusajja ali muno ogamba nti: ‘Nedda.’ ” Sisera yali akooye nnyo, ne yeebaka otulo tungi. Awo Yayeli n'akwata enkondo ya weema n'ennyondo, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi n'eyitamu n'ekwata n'ettaka. Bw'atyo Sisera n'afa. Baraki bwe yajja ng'awondera Sisera, Yayeli n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti: “Jjangu nkulage omusajja gw'onoonya.” Awo Baraki n'ayingira ne Yayeli, n'asanga Sisera ng'agaŋŋalamye afudde, nga n'enkondo ekomereddwa mu kyenyi kye. Bw'atyo ku lunaku olwo, Katonda n'awa Abayisirayeli okuwangula Yabini Kabaka wa Kanaani. Abayisirayeli ne beeyongera okumunyigiriza okutuusa lwe baamala okumuzikiriza. Ku lunaku olwo, Debora ne Baraki mutabani wa Abinowamu, ne bayimba oluyimba luno nti: Mutendereze Mukama, kubanga abakulembeze mu Yisirayeli baamalirira okulwana, era n'abantu ne beewaayo nga beeyagalidde. Muwulire mmwe bakabaka, mutege amatu mmwe abafuzi: nze nnyimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli. Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri n'ova mu Edomu okutabaala, ensi yakankana n'eggulu ne litonnyesa enkuba ng'efukumuka okuva mu bire! Ensozi zaakulukutira mu maaso ga Mukama w'e Sinaayi, Mukama Katonda wa Yisirayeli. Mu mirembe gya Samugari mutabani wa Anati, mu mirembe gya Yayeli enguudo zeewalibwanga, ng'abatambuze bayita mu mpenda. Ebyalo byakala, byaggwaamu abantu, okutuusa ggweDebora lwe wajja nga nnyina wa Yisirayeli. Abayisirayeli bwe baasenga balubaale abaggya, olwo ne wabaawo olutalo mu Yisirayeli. Mu basajja emitwalo ena mu Yisirayeli, waliwo eyatabaala n'engabo oba n'effumu? Nsanyukira abakulembeze ba Yisirayeli, era n'abantu abeewaayo nga beeyagalidde. Mwebaze Mukama. Mukyogereko mmwe abeebagala endogoyi enjeru, mmwe abatuula ku biwempe ebidalize, nammwe abatambula mu nguudo. Muwulirize eddoboozi ly'abali ku nzizi z'amazzi! Boogera ku buwanguzi Mukama bwe yawa Abayisirayeli. Awo abantu ba Mukama ne bakumba nga balaga ku miryango. Situka, situka Debora, situka okoleeze oluyimba! Weesowoleyo Baraki mutabani wa Abinowamu, kulemberamu abasibe b'owambye! Awo abakungu abeesigwa ne baserengeta nga bali wamu ne Mukama okulwanyisa ab'amaanyi. Mu Efurayimu n'evaayo abasibuka mu Ameleki ne bagoberera ab'omu Kika kya Benyamiini. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate n'e Zebbulooni n'evaayo abakungu abasimbisa ennyiriri. N'abakulembeze ba Yissakaari ne bajja ne Debora nga bali bumu ne Baraki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'omu Kika kya Rewubeeni beesalamu ne badda mu kwebuuzaganya, ne batasalawo oba nga banaagenda. Baasigalira ki mu bisibo by'endiga okuwuliriza emirere gye bafuuyira amagana? Aba Rewubeeni beesalamu ne badda mu kwebuuzaganya, ne batasalawo oba nga banaagenda. Ab'omu Kika kya Gaadi baasigala mitala wa Yorudaani. Ab'omu Kika kya Daani baasigalira ki mu maato? Ab'omu Kika kya Aseri baasirikira eri ku lubalama lw'ennyanja, beesigalira ku mwalo. Ab'omu Kika kya Zebbulooni n'ab'omu Kika kya Nafutaali be baaguma ne beewaayo okufiira mu lutalo. Bakabaka baalwanira e Taanaki ku mazzi g'e Megiddo. Bakabaka b'e Kanaani baalwana, ne batafuna munyago gwa nsimbi. Emmunyeenye mu bbanga zaalwana mu lugendo lwazo, zaalwanyisa Sisera. Engezi ya Kisoni omugga ogwo ogw'edda, yabakuluggusa. Nze nkumba nga ntambuza maanyi! Olwo embalaasi ne ziduma, ng'ebinuulo byazo bisambirira ettaka! Malayika wa Mukama agamba nti: “Mukolimire Merozi mukolimire n'abatuuze baamu, kubanga tebadduukirira Mukama mu kulwanyisa ab'amaanyi.” Abakazi abasula mu weema Yayeli muka Heberi Omukeeni bonna ye abasinga omukisa. Sisera yasaba mazzi, Yayeli n'amuwa mata. Yamuweera amata amasunde mu kibya eky'ekikungu. Yakwata mu mukono gwe ogumu enkondo, n'akwata ennyondo mu mukono gwe omulala, n'akomerera Sisera, enkondo n'eyita mu kiwanga kya Sisera. N'akka ku maviivi ge n'awanattuka n'agwa! Awo wansi w'agudde we yasigala ng'afudde. Nnyina Sisera yalingiriza ng'atunuulira mu ddirisa, n'asitula eddoboozi n'abuuza nti: “Embalaasi ze ekizikeereyezza kiki? Lwaki amagaali ge galuddewo okudda?” Abakyala be ab'amagezi nabo ne bamwanukula kennyini kye yeddiramu nti: “Baluddeyo lwa munyago gwe bakuŋŋaanya bagabane: buli musajja omuwala omu oba babiri. Engoye ennungi za Sisera, nfuneyo ez'emidalizo nange.” Bwe batyo abalabe bo ayi Mukama bazikirirenga bonna. Naye abakwagala bonna baakaayakane ng'enjuba evayo. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana. Abayisirayeli era ne bakola ebibi, ne banyiiza Mukama, Mukama n'abaleka okufugibwa Abamidiyaani okumala emyaka musanvu. Midiyaani n'esinga nnyo Yisirayeli amaanyi, Abayisirayeli ne beekweka mu mpuku ne mu bifo ebirala ebyekusifu mu nsozi. Kubanga Abayisirayeli buli lwe baamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba baasitukiranga wamu ne babalumba. Baabazindanga ne bazikiriza ebirime byabwe, okutuukira ddala okumpi n'e Gaaza, ne batalekangawo kyakulya mu Yisirayeli, wadde endiga oba ente oba endogoyi. Bajjanga n'ente zaabwe n'eweema zaabwe, nga bali ng'enzige ezitabalika obungi, bo bennyini n'eŋŋamiya zaabwe, ne bayingira mu nsi, ne bagizikiriza. Yisirayeli n'ejeezebwa nnyo Midiyaani. Awo Abayisirayeli bwe baalaajanira Mukama olw'Abamidiyaani, Mukama n'atuma omulanzi eri Abayisirayeli, n'abagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nabaggya mu Misiri gye mwali mufugibwa obuddu. Era nabawonya obuyinza bw'Abamisiri n'obuyinza bw'abo bonna abaabajoogeranga mu nsi eno mwe muli. Abo ne mbagobamu nga mmwe mujja, ensi yaabwe ne ngigabira mmwe. Ne mbagamba mmwe nti nze Mukama Katonda wammwe. Temuusinzenga balubaale b'Abaamori bannannyini nsi gye mulimu. Naye temwawulira kye mbagamba.’ ” Awo Malayika wa Mukama n'ajja n'atuula wansi w'omuvule gw'e Ofura ogwa Yowaasi Omwabiyezeeri. Gidiyoni mutabani wa Yowaasi oyo, yali ng'awuula eŋŋaano mu ssogolero ly'emizabbibu, okugikisa Abamidiyaani. Malayika wa Mukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi, omuzira.” Gidiyoni n'amugamba nti: “Mukama wange, oba Mukama ali wamu naffe, kale lwaki tutuukibwako ebyo byonna? Era ebyamagero bye yakolanga biri ludda wa, bajjajjaffe bye baatunyumizanga nti Mukama yabaggya mu Misiri? Naye kaakano Mukama atusudde era atuwaddeyo mu buyinza bwa Midiyaani.” Mukama n'akyukira Gidiyoni n'agamba nti: “Genda n'amaanyi go ago gonna, oggye Yisirayeli mu buyinza bwa Midiyaani, nze nkutumye.” Gidiyoni n'amugamba nti: “Mukama wange, Yisirayeli ndimununuza ki? Baganda bange be basinga obutaba na maanyi mu Manasse, ate nze muto mu nnyumba ya kitange.” Mukama n'amugamba nti: “Mazima nja kubeera wamu naawe, era ojja kwanguyirwa okuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.” Gidiyoni n'addamu nti: “Oba nga onsiimye, mpa akabonero akalaga nga ggwe ayogera nange, ggwe Mukama. Nkwegayiridde tova wano, mmale okukuleetera ekirabo.” N'agamba nti: “Nja kubeera wano okutuusa lw'onookomawo.” Awo Gidiyoni n'ayingira mu nnyumba, n'afumba embuzi ento, era n'agoya kilo kkumi ez'obuwunga n'akolamu emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'omukyuzi n'agufuka mu kibya, n'abireeta eri malayika wa Mukama, n'abimuweera wansi w'omuvule. Malayika wa Mukama n'amulagira nti: “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukusiddwa obiteeke ku jjinja lino, obifukeko omukyuzi.” Gidiyoni n'akola bw'atyo. Awo malayika wa Mukama n'asitula ekikolo ky'omuggo gwe yali akutte, n'akoona ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukusiddwa, omuliro ne guva mu jjinja, ne gwokya ennyama n'emigaati. Malayika wa Mukama n'abula. Gidiyoni n'amanya nga gw'alabye abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti: “Zinsanze, ayi Mukama, Katonda, kubanga ndabye malayika wo maaso na maaso!” Mukama n'amugamba nti: “Emirembe gibe naawe, leka kutya. Togenda kufa.” Gidiyoni n'azimbira Mukama alutaari mu kifo ekyo, n'agiyita “Mukama gye mirembe”. N'okutuusa kati gyeri mu Ofura eky'Ababiyezeeri. Mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Kwata ente ya kitaawo ennume, n'ente endala ennume ey'emyaka omusanvu, omenyewo alutaari, kitaawo gye yazimbira Baali, otemeeteme n'empagi ya Asera eri okumpi nayo. Ozimbire Mukama Katonda wo alutaari waggulu ku kigo kino, ng'okozesa amayinja agatereezeddwa obulungi. Oddire ente eyo eyookubiri ogyokye, ng'okozesa enku ez'empagi ya Asera gy'otemye, ebe ekitambiro ekiweebwayo.” Awo Gidiyoni n'atwala abasajja kkumi ku baweereza be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde. Olw'okutya ab'ennyumba ya kitaawe n'ab'omu kibuga, n'atayinza kukikola misana, wabula n'akikola ekiro. Abantu ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkeera ku makya, ne balaba ng'alutaari ya Baali emenyeddwawo, n'empagi ya Asera egibadde okumpi ng'etemeddwawo, nga n'ente ennume eyookubiri eyokeddwa ku alutaari ezimbiddwawo. Ne beebuuzaganya nti: “Ani akoze kino?” Awo bwe baabuuliriza, ne bazuula nga Gidiyoni, mutabani wa Yowaasi ye akikoze. Awo ne bagamba Yowaasi nti: “Fulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye alutaari ya Baali era atemyewo empagi ya Asera egibadde okumpi.” Kyokka Yowaasi bonna abaamulumba n'abagamba nti: “Mwagala okuworereza Baali? Oba mwagala kumulwanirira? Buli ayagala okumuwolereza wa kuttibwa nga tebunnakya nkya. Oba nga Baali lubaale, yeewolereze, kubanga alutaari emenyeddwa yiye.” Okuva olwo Gidiyoni n'ayitibwa Yerubbaali, kubanga Yowaasi yagamba nti: “Baali yeewolereze, kubanga alutaari ye gye bamenye.” Awo Abamidiyaani bonna n'Abamaleki n'abatuuze b'Ebuvanjuba ne bakuŋŋaana, ne basomoka Omugga Yorudaani, ne basiisira mu kiwonvu eky'e Yezireeli. Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Gidiyoni, n'afuuwa eŋŋombe okuyita Ababiyezeri okujja gy'ali. N'atuma ababaka mu bitundu bya Manasse byombi okuyita abaayo bamwegatteko. N'atuma n'ababaka eri ab'Ekika kya Aseri n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, Ne bajja ne bamwegattako. Awo Gidiyoni n'agamba Katonda nti: “Oba ng'onoolokola Yisirayeli ng'okozesa nze nga bwe wagamba, kale nja kuteeka ebyoya by'endiga mu gguuliro ly'eŋŋaano. Ku makya omusulo bwe gunaaba ku byoya kwokka, ettaka nga kkalu, nja kumanya ng'onoonunula Yisirayeli ng'okozesa nze.” Bwe kityo bwe kyaba. Gidiyoni bwe yazuukuka enkeera ku makya, n'akamula ebyoya by'endiga okubimalamu omusulo, ne bivaamu amazzi, ne gajjuza ekibya. Gidiyoni n'agamba Katonda nti: “Tonsunguwalira, leka njogereyo omulundi gumu gwokka. Nzikiriza ngezese ebyoya by'endiga omulundi gumu gwokka. Ku mulundi guno, ebyoya by'endiga bibe bikalu, ettaka lye liba litoba omusulo.” Ekiro ekyo, Katonda n'akola bw'atyo. Enkeera ku makya ebyoya by'endiga byokka bye byali ebikalu, ettaka lyonna nga lye litobye omusulo. Awo Yerubbaali, ye Gidiyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bazuukuka mu makya, ne basiisira ku lusozi Harodi. Olusiisira lw'Abamidiyaani lwali mu kiwonvu, ku ludda lwabwe olw'ebukiikakkono ku mabbali g'Olusozi More. Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Abantu abali naawe bayitiridde obungi nze okubawa okuwangula Abamidiyaani. Abayisirayeli bayinza okunneewaanirako nga bagamba nti bawangudde lwa maanyi gaabwe. Kale nno kaakano langirira mu bantu nti: ‘Buli atya era akankana, addeyo ewaabwe, ave ku Lusozi Gileyaadi.’ ” Awo abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, abantu omutwalo gumu ne basigala. Awo Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Abantu bakyayinze obungi. Baserengese ku mazzi, mbakulonderemu eyo. Oyo gwe nnaakugamba nti anaagenda naawe, oyo ye anaagenda naawe. Era buli gwe nnaakugamba nti ono tagenda naawe, ye ataagende naawe.” Gidiyoni n'aserengesa abantu ku mazzi. Mukama n'amugamba nti: “Buli anaakomba amazzi n'olulimi lwe ng'embwa bw'ekomba, mwawule ku buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa amazzi.” Abaasena amazzi mu bibatu byabwe ne bagakomba n'olulimi, baali ebikumi bisatu. Abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi. Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Nja kubanunula mmwe nga nkozesa abasajja abo ebikumi bisatu abakombye amazzi, nkuwe okuwangula Abamidiyaani. Abalala bonna baddeyo ewaabwe.” Gidiyoni n'asindika Abayisirayeli bonna baddeyo ewaabwe, okuggyako ebikumi ebisatu, be yasigala nabo, ne basigaza ebyokulya byonna n'eŋŋombe. Ekiro ekyo, Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Situka, olumbe olusiisira; ndukuwadde oluwangule. Naye oba ng'otya okulumba, serengetayo ne Pura omuweereza wo. Ojja kuwulira bye boogera, olyoke ofune amaanyi okulumba olusiisira.” Awo Gidiyoni n'aserengeta n'omuweereza we Pura ku njegoyego y'olusiisira lw'omulabe. Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba, baali babisse ekiwonvu, nga bali ng'enzige obungi, era n'eŋŋamiya ze balina butabalika, ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja. Gidiyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti: “Naloose omugaati gwa bbaale, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.” Munne n'addamu nti: “Ekyo kitala kya Gidiyoni, mutabani wa Yowaasi, Omuyisirayeli! Tekitegeeza kirala! Katonda amuwadde okuwangula Midiyaani n'eggye lyaffe lyonna.” Gidiyoni bwe yawulira ekirooto ky'omusajja n'amakulu gaakyo, n'asinza Katonda, n'addayo mu lusiisira lw'Abayisirayeli, n'agamba nti “Musituke! Mukama abawadde mmwe okuwangula eggye ly'Abamidiyaani.” Basajja be ebikumi ebisatu n'abagabanyaamu ebibinja bisatu. Buli musajja n'amukwasa eŋŋombe n'ensuwa enkalu, ng'erimu omumuli. N'abagamba nti: “Bwe nnaatuuka ku njegoyego y'olusiisira, muntunuulire! Kye nnaakola, nammwe kye muba mukola. Nze ne bonna abali nange bwe tunaafuuwa eŋŋombe zaffe, olwo nammwe ne mufuuwa ezammwe wonna okwetooloola olusiisira, ne muleekaana nti: ‘Ku lwa Mukama ne ku lwa Gidiyoni!’ ” Awo Gidiyoni n'abasajja kikumi abaali naye, ne batuuka ku njegoyego y'olusiisira, ng'obudde bubulako katono okutuuka ettumbi, nga kye bajje bakyuse abakuumi. Ne bafuuwa eŋŋombe zaabwe, ne baasa ensuwa ze baali bakutte. N'ab'ebibinja ebirala ebibiri ne bakola kye kimu. Bonna ne bakwata emimuli mu mikono gyabwe egya kkono, n'eŋŋombe mu gya ddyo, ne baleekaana nti: “Ekitala kya Mukama era kya Gidiyoni!” Buli omu n'ayimirira mu kifo kye okwetooloola olusiisira. Ab'eggye lyonna ery'omulabe ne badduka nga baleekaana. Abasajja ba Gidiyoni bwe bafuuwa eŋŋombe zaabwe, Mukama n'aleetera ab'eggye ly'omulabe okulumbagana bokka na bokka, buli omu ng'alwanyisa munne n'ekitala. Ne badduka okutuuka e Betusitta, okwolekera Zerera, okutuuka ku nsalo ne Abeli Mewola, okumpi ne Tabbati. Abasajja Abayisirayeli ne bakuŋŋaanyizibwa okuva mu Bika ekya Nafutaali n'ekya Aseri n'ekya Manasse kyonna, ne bawondera Abamidiyaani. Gidiyoni n'atuma ababaka mu nsi yonna eya Efurayimu ey'ensozi, nga bagamba nti: “Muserengete okulwanyisa Abamidiyaani. Mwekwate Omugga Yorudaani n'ebitundu ebirala eby'amazzi okutuuka e Betubara.” Ne bakwata abalangira ba Midiyaani ababiri Orebu ne Zeebu, ne battira Orebu ku Lwazi lwa Orebu, ne Zeebu ne bamuttira mu Ssogolero lya Zeebu. Ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Emitwe gya Orebu ne Zeebu ne bagireetera Gidiyoni emitala wa Yorudaani. Awo abasajja b'Efurayimu ne bagamba Gidiyoni nti: “Lwaki watuyisa bw'otyo obutatuyita ng'ogenda okulwanyisa Abamidiyaani?” Ne bamunenya nnyo. Ye n'abagamba nti: “Kye nakola tekiriiko bwe kiri bw'okigeraageranya n'ekyo mmwe kye mukoze. Mmwe aba Efurayimu kye mukoze kisingira ddala ekyo ffe ab'ennyumba ya Abiyezeeri kye tukoze. Katonda abawadde mmwe okutta abalangira ba Midiyaani ababiri Orebu ne Zeebu. Kale nze nkoze ki ekyenkanankana n'ekyo?” Bwe yamala okwogera ebyo, obusungu bwabwe ne bukkakkana. Olwo Gidiyoni ne basajja be ebikumi ebisatu ne batuuka ku Mugga Yorudaani, ne bagusomoka nga bakooye, naye nga bakyawondera omulabe. Bwe yatuuka e Sukkoti, n'agamba abaayo nti: “Mbeegayiridde, basajja bange mubawe ku mmere, kubanga bakooye, ate nga mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka Abamidiyaani.” Abakulembeze mu Sukkoti ne bagamba nti: “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tuliwe emmere?” Gidiyoni n'agamba nti: “Kale, Mukama bw'alimala okuwaayo Zeba ne Zalumunna mu mikono gyange, ndibakubisa amaggwa n'emyeramannyo eby'omu ttale.” Gidiyoni n'avaayo, n'ayambuka e Penweli, n'abantu baayo n'abasaba ekintu kye kimu. Naye ab'omu Penweli ne bamuddamu mu ngeri ye emu ng'ab'e Sukkoti. Ab'eyo bo n'abagamba nti: “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala gwammwe guno.” Zeba ne Zalumunna baali mu Karukori n'eggye lyabwe. Ku ggye lyonna ery'abasajja b'ebuvanjuba, omutwalo gumu mu enkumi ttaano be baali basigaddewo. Abalwanyi emitwalo kkumi n'ebiri baali battiddwa. Gidiyoni n'ayambukira mu kkubo ery'ebuvanjuba bwa Noba ne Yogubeha, n'alumba, eggye nga terimulindiridde. Bakabaka bombi Abamidiyaani Zeba ne Zalumunna ne badduka, kyokka Gidiyoni n'abawondera n'abakwata, n'atiisa eggye lyabwe lyonna. Gidiyoni bwe yali ng'akomawo okuva mu lutalo, ng'ayambuka mu Aresi, n'awamba omuvubuka w'e Sukkoti, n'abaako by'amubuuza. Omuvubuka n'awandiikira Gidiyoni amannya nsanvu mu musanvu ag'abakungu n'abakulembeze mu Sukkoti. Awo Gidiyoni n'agenda eri ab'e Sukkoti n'agamba nti: “Mujjukira nga bwe mwagaana okunnyamba? Mwagamba nti temuyinza kuwa mmere basajja bange abakooye, kubanga nali sinnawamba Zeba ne Zalumunna. Kati baabano, mubalabe!” N'addira amaggwa n'emyeramannyo eby'omu ttale, n'abonereza abakulembeze b'e Sukkoti. Era n'amenyaamenya omunaala gw'e Penweli, n'atta abasajja ab'omu kibuga ekyo. Awo Gidiyoni n'abuuza Zeba ne Zalumunna nti: “Abasajja be mwattira e Tabori baali bafaanana batya?” Ne baddamu nti: “Baali bakufaanana, buli omu ku bo ng'afaanana omwana wa kabaka.” Gidiyoni n'agamba nti: “Baali baganda bange, abaana ba mmange bennyini. Ndayira Mukama omulamu nti singa temwabatta, sandibasse mmwe.” N'agamba Yeteri, mutabani we omukulu nti: “Situka, obatte!” Kyokka omubuvuka oyo n'atasowola kitala kye. Yatya, kubanga yali akyali mulenzi muto. Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidiyoni nti: “Ggwe oba otutta! Ekikolwa ng'ekyo kisobolwa musajja!” Gidiyoni n'asituka n'abatta. N'atwala eby'okwewoomya ebyali bitimbiddwa mu bulago bw'eŋŋamiya zaabwe, ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi. Awo Abayisirayeli ne bagamba Gidiyoni nti: “Tufuge ggwe era n'abasika bo, kubanga otuwonyezza Abamidiyaani.” Gidiyoni n'abagamba nti: “Nze sigenda kubafuga, wadde mutabani wange. Mukama ye anaabafuganga.” Kyokka n'abagamba nti: “Ka mbasabe kino: buli omu ampe empeta ez'omu matu ze yanyaga.” (Abamidiyaani baalina empeta z'omu matu eza zaabu ng'Abayisimayeli abalala). Ne baddamu nti: “Tunaazikuwa na ssanyu.” Ne baaliirawo olugoye, buli omu n'ateekawo empeta z'omu matu ze yanyaga. Empeta ze yafuna ne zizitowa kilo kumpi makumi abiri, nga tobaliddeeko byakwewoomya ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi, era n'emikuufu egy'omu bulago, n'engoye eza kakobe bakabaka ba Midiyaani ze bambala, n'enjegere ezaali mu nsingo z'eŋŋamiya zaabwe. Mu zaabu oyo, Gidiyoni n'akolamu ekifaananyi, n'akiteeka mu kibuga ky'e Ofura. Abayisirayeli bonna ne bava ku Katonda, ne bagendangayo okukisinza, ne kifuuka kyambika eri Gidiyoni n'ab'omu maka ge. Awo Midiyaani n'ewangulwa Yisirayeli, n'eteddamu kubeeraliikiriza. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana, okutuusa Gidiyoni lwe yafa. Yerubbaali, ye Gidiyoni, mutabani wa Yowaasi n'addayo mu maka ge, n'abeera eyo. Yazaala abaana ab'obulenzi nsanvu, kubanga yawasa abakazi bangi. Era yalina omukazi muganzi we, eyali e Sekemu, naye n'amuzaalira omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Abimeleki. Gidiyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'amaze okukaddiwa obulungi, ne bamuziika mu ntaana ya Yowaasi kitaawe mu Ofura, ekibuga ky'Ababiyezeeri. Gidiyoni nga yaakafa, Abayisirayeli ne baddamu obutaba beesigwa eri Katonda, ne basinza Babbaali, ne bafuula Baali-Beriti lubaale waabwe, ne beerabira Mukama, Katonda waabwe eyabawonya abalabe baabwe bonna ababeetoolodde. Tebaalaga kusiima ba nnyumba ya Gidiyoni olw'ebirungi byonna bye yakolera Yisirayeli. Abimeleki mutabani wa Yerubbaali, n'agenda e Sekemu ku bukojjaabwe, n'agamba abooluganda lwa nnyina bonna okubuuza abantu b'e Sekemu nti: “Kiruwa kye musinga okusiima? Okufugibwanga batabani ba Yerubbaali ensanvu, oba omu okubafuganga? Mujjukire nga nze ndi wa musaayi gwammwe.” Abooluganda lwa nnyina ne bamutuusiza ebigambo ebyo byonna eri abantu b'e Sekemu. Abantu b'e Sekemu ne basalawo okugoberera Abimeleki, kubanga gwe baalinako oluganda. Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza nsanvu, bye baggya mu ssabo lya Baali-Beriti. Ensimbi ezo Abimeleki ze yakozesa okupangisa abasajja abataliiko kye bagasa era abatabufutabufu, ne bamugoberera, n'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofura, n'attirayo ku jjinja limu, baganda be ensanvu, batabani ba Yerubbaali. Naye Yotamu mutabani wa Yerubbaali asembayo obuto, ne yeekweka, n'atattibwa. Abatuuze bonna ab'omu Sekemu n'ab'e Betimillo bonna, ne bakuŋŋaana, ne bafuula Abimeleki kabaka, wansi w'omuvule gw'e Sekemu. Awo Yotamu bwe yakimanya, n'agenda n'ayimirira ku ntikko y'olusozi Gerizimu, n'akangula eddoboozi, n'abalagiriza nti: “Mumpulire, mmwe abatuuze b'e Sekemu, Katonda alyoke abawulire mmwe. Olwatuuka, emiti ne gigenda okulonda kabaka anaagifuganga. Ne gigamba omuti omuzayiti nti: ‘Ba kabaka waffe.’ Omuzayiti ne guddamu nti: ‘Ndekeyo okuvaamu omuzigo ogukozesebwa okussaamu ekitiibwa Katonda n'abantu, nzire mu kufuga emiti?’ Emiti ne gigamba omuti omutiini nti: ‘Jjangu ggwe, obe kabaka waffe.’ Naye omutiini ne gugamba nti: ‘Ndekerere okubala ebibala byange ebirungi era ebiwoomu, nzire mu kufuga emiti?’ Emiti ne gigamba omuzabbibu nti: ‘Jjangu ggwe, obe kabaka waffe.’ Naye omuzabbibu ne guddamu nti: ‘Ndekeyo okuvaamu omwenge gwange ogusanyusa Katonda n'abantu, nzire mu kufuga emiti?’ Awo emiti gyonna ne gigamba omweramannyo nti: ‘Jjangu ggwe, obe kabaka waffe.’ Omweramannyo ne gugamba emiti nti: ‘Oba nga ddala mwagala okunfuula kabaka wammwe, kale mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye oba nga si ekyo, omuliro gunaava mu matabi gange ag'amaggwa, ne gumalawo emivule egy'oku Lebanooni.’ “Kale kaakano mwakola kituufu era kya bwenkanya okufuula Abimeleki kabaka? Mwajjukira ebirungi Gidiyoni bye yabakolera? Era ab'ennyumba ye mwabayisa bulungi nga bwe kisaanira? Mujjukire nga kitange yabalwanirira, n'awaayo obulamu bwe, n'abawonya Abamidiyaani. Naye mmwe olwaleero mwefuukidde ab'ennyumba ya kitange. Era batabani be, abantu ensanvu, mubattidde ku jjinja limu, Abimeleki mutabani w'omuzaana ne mumufuula kabaka wa Sekemu, kubanga ye wooluganda lwammwe. Kale oba nga kye mukoze Yerubbaali n'ab'ennyumba ye kye kituufu era eky'obwenkanya, musanyukire Abimeleki era naye abasanyukire mmwe. Naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu Abimeleki gwokye ab'omu Sekemu n'ab'e Betimillo, era omuliro guve mu bantu b'omu Sekemu n'ab'e Betimillo, gwokye Abimeleki.” Yotamu, olw'okutya muganda we Abimeleki, n'ayanguwa n'addukira e Beeri, n'abeera eyo. Abimeleki n'afugira Yisirayeli emyaka esatu. Awo Katonda n'akyawaganya Abimeleki n'abantu b'omu Sekemu. Ab'omu Sekemu ne basalira Abimeleki enkwe. Ekyo kyabaawo, Abimeleki n'abantu b'e Sekemu, abaamuwagira okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, basasule omusango gwabwe. Ab'omu Sekemu ne bassaawo abasajja okuteegeranga Abimeleki ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna ababayitako mu kkubo eryo. Kino Abimeleki ne bakimubuulira. Awo Gaali mutabani wa Ebedi, n'ajja ne baganda be e Sekemu, abantu b'e Sekemu ne bamwesiga. Bonna ne bagenda mu nnimiro zaabwe ez'emizabbibu ne bagisogola, ne bafumba embaga, ne bayingira mu ssabo lya lubaale waabwe, ne balya era ne banywa, ne boogera ebinyooma Abimeleki. Gaali mutabani wa Ebedi n'agamba nti: “Tuli bantu ba ngeri ki mu Sekemu? Lwaki tuweereza Abimeleki? Ye ye ani? Si mutabani wa Yerubbaali? Ye ne Zebuli omumyuka we, si baweereza ba basajja ba Hamori, kitaawe wa Sekemu? Kale lwaki tumuweereza? Era singa nze mukulembeze w'abantu bano, nandiggyeewo Abimeleki! Nandigambye Abimeleki nti: ‘Nyweza eggye lyo, weesowoleyo olwane.’ ” Zebuli omukulu w'ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n'asunguwala. N'atuma ababaka eri Abimeleki mu Aruma okumutegeeza nti: “Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu, era basekeeterera ekibuga okukulwanyisa. Kale kaakano, ggwe n'abantu bo, mwandizinduse kiro ne muteega mu nnimiro. Situka ku makya, enjuba nga ky'ejje eveeyo, olumbe ekibuga. Gaali n'abantu be bwe banaavaayo okukulumba, obakubire ddala nga bw'osobola.” Awo Abimeleki ne bonna abaali naye ne bazinduka kiro, ne bateega ebweru wa Sekemu mu bibinja bina. Abimeleki n'abaali naye bwe baalaba Gaali ng'afuluma n'ayimirira ku mulyango ogwa wankaaki w'ekibuga, ne basituka we baali bateegedde. Gaali bwe yabalaba n'agamba Zebuli nti: “Laba abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi.” Zebuli n'addamu nti: “Olaba bisiikirize bya nsozi nga bifaanana ng'abantu.” Gaali n'agamba nate nti: “Laba abantu bakkirira nga bayitira mu muwaatwa gw'olusozi, n'ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery'oku muvule gw'abalaguzi.” Awo Zebuli n'alyoka amugamba nti: “Okwewaana kwo kuli ludda wa? Kubanga wagamba nti Abimeleki ye ani ffe okumuweereza? Bano be bantu be wanyooma. Kaakano weesowoleyo obalwanyise!” Gaali n'akulembera abasajja ab'e Sekemu, n'afuluma n'alwanyisa Abimeleki. Gaali n'adduka. Abimeleki n'amuwondera okutuuka ku mulyango gwa wankaaki. Bangi ne bagwa nga bafumitiddwa. Abimeleki n'abeera mu Aruma. Zebuli n'agoba Gaali ne baganda be mu Sekemu, baleme kubeerangamu. Ku lunaku olwaddirira ne babuulira Abimeleki nti abantu bategeka okugenda mu nnimiro. Awo n'atwala basajja be n'abagabanyaamu ebibinja bisatu, n'ateegera mu nnimiro, n'alinda. Bwe yalaba abantu nga bafuluma mu kibuga, n'avaayo gye yali yeekwese, n'abalumba. Abimeleki n'ab'ekibinja ekyali naye, ne bafubutuka, ne bakuuma omulyango gwa wankaaki w'ekibuga. Ab'ebibinja ebibiri ne balumba abantu abaali mu nnimiro, ne babatta bonna. Abimeleki n'azibya olunaku olwo ng'alwanyisa ekibuga, n'akiwamba, n'atta abantu baamu, n'akimenyaamenya, n'akiyiwamu omunnyo. Abantu bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo, ne bayingira mu kinnya eky'omu ssabo lya Eluberiti. Ne babuulira Abimeleki nti bonna bakuŋŋaanidde omwo. Awo n'ayambuka ku Lusozi Zalumoni ne basajja be. N'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, n'alikwata, n'aliteeka ku kibegabega kye. N'alagira basajja be banguwe, nabo bakole nga bw'akoze. Awo buli omu n'atema ettabi ku muti, n'agoberera Abimeleki. Ne batuuma amatabi ku kinnya kiri. Ne bakikumako omuliro. Abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu ne bafiiramu, abasajja n'abakazi nga lukumi. Awo Abimeleki n'agenda e Tebezi, n'asiisira okwetooloola ekibuga ekyo, n'akiwamba. Kyalimu ekigo eky'amaanyi. Abantu bonna ab'omu kibuga, abasajja n'abakazi, ne baddukira omwo, ne beggaliramu, ne balinnya mu kasolya. Abimeleki bwe yajja okulumba ekigo, n'agenda ku mulyango, okwokya ekigo omuliro. Naye omukazi omu n'asuula olubengo ku mutwe gwa Abimeleki, n'amwasa ekiwanga. Abimeleki n'ayanguwa okuyita omulenzi eyakwatanga ebyokulwanyisa bye, n'amulagira nti: “Sowola ekitala kyo, onzite, abantu balemenga okunjogerako nti omukazi ye yanzita.” Omulenzi we n'amufumita, n'afa. Abayisirayeli bwe baalaba nga Abimeleki afudde, bonna ne baddayo ewaabwe. Katonda bw'atyo bwe yasasula Abimeleki olw'omusango gwe yazza ku kitaawe ng'atta baganda be ensanvu. Katonda era n'abonereza abantu b'omu Sekemu olw'ekibi kyabwe, ne Yotamu kye yabakolimira ne kituukirira. Abimeleki bwe yamala okufa, Tola mutabani wa Puwa era muzzukulu wa Dodo, n'ajja okununula Yisirayeli. Yali wa mu Kika kya Yissakaari, ng'abeera mu Samiri mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. N'aba omukulembeze wa Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, n'afa ne bamuziika mu Samari. Tola bwe yavaawo, ne waddawo Yayiri, eyava e Gileyaadi. N'akulembera Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri. Yalina batabani be amakumi asatu, abeebagalanga endogoyi amakumi asatu. Baalina ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gileyaadi, ebikyayitibwa Ebyalo bya Yayiri. Yayiri yafa ne bamuziika mu Kamoni. Abayisirayeli ne beeyongera nate okukola ebibi ne banyiiza Mukama, nga basinza Babbaali ne Asitarooti, ne balubaale b'e Siriya n'ab'e Sidoni, n'ab'e Mowaabu, ne balubaale b'Abammoni n'ab'e Filistiya. ne bava ku Mukama, ne batamuweereza. Mukama n'asunguwalira Abayisirayeli, n'aleka Abafilistiya n'Abammoni okubawangula. Okumala emyaka kkumi na munaana, ne banyigiriza era ne bayigganya Abayisirayeli bonna abaali emitala w'omugga Yorudaani, mu nsi y'Abaamori, eri mu Gileyaadi. Abammoni ne basomoka Omugga Yorudaani nabo okulwanyisa ekika kya Yuda n'ekya Benyamiini, n'ekya Efurayimu. Yisirayeli ne yeeraliikirira nnyo. Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama nga bagamba nti: “Twayonoona mu maaso go, kubanga twakuvaako, ggwe Katonda waffe, ne tuweereza Babbaali.” Mukama n'abaddamu nti: “Saabawonya Abamisiri, n'Abaamori, n'Abammoni n'Abafilistiya? Era n'Abasidoni, n'Abamaleki n'Abamawoni baababonyaabonya mmwe, ne munkaabirira, ne mbabawonya. Naye mwanvaako ne muweereza balubaale, kyenva ŋŋaana okuddamu okubanunula. Mugende mukaabirire balubaale mu bizibu.” Naye Abayisirayeli ne bagamba Mukama nti: “Twayonoona. Tukoleko kyonna ky'onoolaba nga kisaana, naye tukwegayiridde tununule.” Ne beggyako balubaale abagwira, ne baweereza Mukama. N'alumwa omwoyo olw'okubonaabona kwa Yisirayeli. Awo Abammoni ne bakuŋŋaana ne basiisira e Mizupa mu Gileyaadi. Abantu abakulu ab'e Gileyaadi ne beebuuzaganya nti: “Ani anaakulembera olutalo lw'okulwanyisa Abammoni? Oyo ye aliba omukulembeze wa bonna mu Gileyaadi.” Yefuta omutabaazi ow'amaanyi omuzira ow'e Gileyaadi, yali mutabani wa mukazi malaaya. Gileyaadi kitaawe, yalina batabani be abalala, aba mukazi we. Bwe baakula, ne bagoba Yefuta awaka, ne bamugamba nti: “Tolibaako ky'osikira mu nnyumba ya kitaffe, kubanga oli mwana wa mukazi mulala.” Awo Yefuta n'adduka baganda be, n'abeera mu nsi y'e Tobu. Abasajja abataliiko kye bagasa ne bamukuŋŋaanirako, ne batabaalanga wamu naye. Awo ekiseera bwe kyayitawo, Abammoni ne balwanyisa Yisirayeli. Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagenda okuggyayo Yefuta mu nsi y'e Tobu. Ne bamugamba nti: “Jjangu otukulembere, tulwanyise Abammoni.” Yefuta n'abagamba nti: “Mwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange. Kale lwaki mujja gye ndi kaakano nga muli mu buzibu?” Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagamba Yefuta nti: “Tukyukira gy'oli kaakano, kubanga twagala ogende naffe olwanyise Abammoni, era obe mukulembeze wa bantu bonna mu Gileyaadi.” Yefuta n'abagamba nti: “Bwe munanzizaayo ewaffe okulwanyisa Abammoni, Mukama n'ampa obuwanguzi, ndiba mufuzi wammwe.” Ne bamuddamu nti: “Tukkirizza. Mukama ye mujulirwa waffe.” Awo Yefuta n'agenda n'abakulembeze b'e Gileyaadi, abantu ne bamufuula omukulu waabwe abafuga. Yefuta n'ayogera ebigambo bye byonna mu maaso ga Mukama e Mizupa. Awo Yefuta n'atuma ababaka eri kabaka w'Abammoni okumugamba nti: “Otuvunaana ki? Lwaki olumba ensi yaffe?” Kabaka w'Abammoni n'addamu ababaka ba Yefuta nti: “Abayisirayeli bwe baava mu Misiri, baatwala ekitundu ky'ensi yange, okuva ku Mugga Arunoni, okutuuka ku Mugga Yabboki, ne ku Mugga Yorudaani. Kale kaakano ekitundu ekyo mukituddize lwa mirembe.” Yefuta n'atuma nate ababaka eri kabaka w'Abammoni ng'amuddamu nti: “Yisirayeli tanyaganga nsi ya Mowaabu, wadde ensi ya Ammoni. Naye Abayisirayeli bwe baava e Misiri, baayita mu ddungu okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, ne bagguka e Kadesi. Awo ne batuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumusaba abakkirize okuyita mu nsi ye. Kyokka kabaka wa Edomu n'atabakkiriza. Abayisirayeli ne basigala e Kadesi. Awo ne balyoka bayita mu ddungu, ne beetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, ne batuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni. Naye tebaatuuka mu ttaka lya Mowaabu, kubanga Arunoni ye nsalo ya Mowaabu. Awo Abayisirayeli ne batuma ababaka eri Sihoni, kabaka w'Abaamori ow'e Hesubooni, ne bamusaba abakkirize okuyita mu nsi ye bagende mu yaabwe. Kyokka Sihoni n'ateesiga Yisirayeli kuyita mu nsi ye. N'akuŋŋaanya eggye lyonna n'asiisira mu Yahazi n'alwanyisa Yisirayeli. Mukama, Katonda wa Yisirayeli n'awa Abayisirayeli okuwangula Sihoni n'eggye lye. Abayisirayeli ne balyoka batwala ekitundu kyonna eky'Abaamori abaabeeranga mu nsi eyo. Ne batwala ekitundu kyonna eky'Abaamori, okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki, mu bukiikakkono, n'okuva ku Yorudaani mu bukiikaddyo. Kale Mukama Katonda wa Yisirayeli ye yagobamu Abaamori olw'abantu be Abayisirayeli. Ggwe onookyeddiza? Kuuma ensi, lubaale wo Kemosi gy'akuwa. Naye naffe tujja kukuuma buli kimu Mukama Katonda waffe ky'atuwa. Olowooza nga ggwe osinga Balaki, mutabani wa Zippori, kabaka wa Mowaabu? Yawakanyaako Abayisirayeli, wadde okubalwanyisa? Yisirayeli amaze emyaka ebikumi bisatu mu Hesubooni ne Aroweri, n'ebyalo ebibyetoolodde, ne mu bibuga byonna, ebiri ku mbalama z'Omugga Arunoni. Kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo? Si nze nsobezza, naye ggwe osobezza okunnwanyisa. Mukama ye mulamuzi. Alamule leero wakati w'Abayisirayeli n'Abammoni.” Naye kabaka w'Abammoni n'atafa ku bubaka, Yefuta bwe yamutumira. Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yefuta, n'ayita mu Gileyaadi ne mu Manasse, n'adda mu Mizupa eky'omu Gileyaadi, n'agenda eri Abammoni. Yefuta ne yeeyama obweyamo eri Mukama nti: “Bw'olimpa okuwangula Abammoni, omuntu alisooka okufuluma mu miryango gy'ennyumba yange okunnyaniriza nga nkomyewo n'obuwanguzi, aliba wa Mukama. Ndimuwaayo okuba ekitambiro ekyokebwa.” Awo Yefuta n'asomoka omugga okulwanyisa Abammoni, Mukama n'amuwa obuwanguzi. N'abakuba okuva ku Aroweri okutuuka mu miriraano gya Minniti, bye bibuga amakumi abiri, n'okutuuka ku Abelu Keramimu. N'abattamu bangi nnyo. Bwe batyo Abammoni ne bawangulwa Abayisirayeli. Yefuta bwe yaddayo eka mu Mizupa, muwala we n'ajja okumusisinkana ng'azina era ng'akuba ensaasi. Ye yali omwana we yekka. Teyalina mwana mulala ow'obulenzi oba ow'obuwala okuggyako oyo yekka. Yefuta bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazizza nnyo! Era ondeetedde okweraliikirira, kubanga neeyama obweyamo eri Mukama, siyinza kubumenyawo!” Omuwala n'amugamba nti: “Kitange, oba nga weeyama obweyamo eri Mukama, tuukiriza kye wagamba okunkolako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga ku balabe bo Abammoni.” Kyokka n'agamba kitaawe nti: “Nkolera ekintu kino kimu: ndeka okumala emyezi ebiri, ŋŋende ne mikwano gyange ntambuletambule mu nsozi, nkungubage olw'okufa nga simanyi musajja.” Yefuta n'amugamba nti: “Genda.” N'amusiibula amale emyezi ebiri. N'agenda ne mikwano gye mu nsozi n'akungubagira eyo olw'okufa nga tamanyi musajja. Emyezi ebiri bwe gyaggwaako, omuwala n'adda eri kitaawe. Kitaawe n'akola nga bwe yeeyama eri Mukama, omuwala n'afa nga tamanyi musajja. Eno ye yali entandikwa y'empisa mu Yisirayeli, abawala okugendanga buli mwaka, ne bamala ennaku nnya nga bakungubagira muwala wa Yefuta ow'e Gileyaadi. Abeefurayimu ne bategeka olutalo, ne basomoka Omugga Yorudaani, ne bajja e Zafoni, ne bagamba Yefuta nti: “Lwaki wasala ensalo n'ogenda okulwanyisa Abammoni, n'ototuyita kugenda naawe? Tujja kukwokera mu nnyumba yo!” Yefuta n'abagamba nti: “Nze n'abantu bange twalina enkaayana ey'amaanyi n'Abammoni. Nabayita mmwe, naye ne mutajja kubamponya. Bwe nalaba nga temunziruukiridde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nsala ensalo okulwanyisa Abammoni, Mukama n'ampa okubawangula. Kale lwaki mujja gye ndi okunnwanyisa?” Awo Yefuta n'akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gileyaadi, n'alwanyisa Abefurayimu n'abagoba. Abeefurayimu baali bagamba nti: “Mmwe Abagileyaadi mu Efurayimu ne mu Manasse, mwadduka ku Efurayimu.” Abagileyaadi okuziyiza Abeefurayimu okutoloka, beekwata ebifo byonna, Omugga Yorudaani we guyinza okusomokerwa. Buli Mwefurayimu eyajjanga n'asaba bamukkirize okusomoka, nga bamubuuza nti: “Oli Mwefurayimu?” Bwe yaddangamu nti: “Nedda”, ne bamugamba ayogere nti: “Shibboleti,” n'ayogera nti: “Sibboleti,” kubanga teyayinzanga kukyatula bulungi, nga bamukwata, nga bamuttira ku emu ku nsomoko za Yorudaani. Mu biro ebyo, Abeefurayimu emitwalo ena mu enkumi bbiri ne battibwa. Yefuta n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka mukaaga, n'afa, ne bamuziika mu kimu ku bibuga by'omu Gileyaadi. Yefuta bwe yavaawo, Yibuzaani ow'e Betilehemu n'akulembera Yisirayeli. Yalina batabani be amakumi asatu, ne bawala be amakumi asatu. N'afumbiza bawala be abo mu bika ebirala. N'aggya abawala amakumi asatu mu bika ebirala, n'abawasiza batabani be. N'akulembera Yisirayeli okumala emyaka musanvu, n'afa, ne bamuziika mu Betilehemu. Yibuzaani bwe yavaawo, Eloni Omuzebbulooni n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka kkumi, n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni. Eloni bwe yavaawo, Abudooni mutabani wa Hilleli Omupiratoni n'akulembera Yisirayeli. Yalina batabani be amakumi ana, ne bazzukulu be amakumi asatu, abeebagalanga ku ndogoyi nsanvu. Abudooni yakulembera Yisirayeli okumala emyaka munaana, n'afa, ne bamuziika mu Piratoni, mu nsi ya Efurayimu, mu kitundu ky'Abamaleki eky'ensozi. Awo Abayisirayeli ne beeyongera nate okukola ebibi ne banyiiza Mukama. Mukama n'abaleka okufugibwa Abafilistiya okumala emyaka amakumi ana. Waaliwo omusajja, erinnya lye Manowa, ow'e Zora, ow'omu kika kya Daani. Mukazi we yali mugumba. Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi oyo n'amugamba nti: “Oli mugumba, tozaalanga ku mwana. Naye ojja kuba olubuto, ozaale omwana wa bulenzi. Weekuume oleme kunywa ku mwenge, oba ku kitamiiza kyonna, wadde okulya ku kintu kyonna eky'omuzizo. Era omwana ow'obulenzi gw'olizaala, taamwebwengako nviiri, kubanga omwana oyo aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto. Ye alitandika omulimu ogw'okununula Yisirayeli mu Bafilistiya.” Awo omukazi n'agenda n'abuulira bba nti: “Omuntu wa Katonda azze gye ndi, ng'amaaso ge gatiisa ng'aga malayika wa Katonda. Simubuuzizza gy'avudde, era tambuulidde linnya lye. Wabula aŋŋambye nti nja kuba olubuto, nzaale omwana wa bulenzi. Aŋŋambye obutanywa mwenge, wadde ekitamiiza ekirala kyonna, n'obutalya kintu na kimu eky'omuzizo, kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda obulamu bwe bwonna.” Awo Manowa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, omuntu wa Katonda oyo gwe watumye, muleke adde gye tuli, atutegeeze kye tulikolera omwana, agenda okuzaalibwa.” Katonda n'akola ekyo Manowa kye yasaba, malayika we n'adda eri omukazi bwe yali ng'atudde mu nnimiro, kyokka Manowa bba teyali naye. Omukazi n'adduka mangu n'abuulira bba nti: “Laba, omusajja oli eyajja gye ndi olulala, era andabikidde!” Monowa n'asituka n'agoberera mukazi we. N'agenda eri omusajja, n'amubuuza nti: “Ggwe musajja eyayogera ne mukazi wange?” N'addamu nti: “Ye nze.” Manowa n'amubuuza nti: “Ebigambo byo bwe birituukirira, omwana alikola mulimu ki? Era obulamu bwe buliba bwa ngeri ki?” Malayika wa Mukama n'addamu nti: “Mukazi wo yeegendereze okukola byonna bye namugamba. Talyanga ku kintu kyonna ekiva ku mizabbibu. Tanywanga mwenge, wadde ekirala kyonna ekitamiiza. Era talyanga kya muzigo na kimu. Akwatanga byonna bye namulagira.” Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti: “Tubuulire erinnya lyo, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukusseemu ekitiibwa.” Malayika wa Mukama n'amuddamu nti: “Obuuliza ki erinnya lyange? Linnya lya magero.” Awo Manowa n'akwata embuzi ento n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'abiweerayo ku lwazi eri Mukama akola ebyamagero. Manowa n'agamba mukazi we nti: “Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda!” Kyokka mukazi we n'addamu nti: “Singa Mukama abadde ayagala kututta, teyandikirizza ekiweebwayo kyaffe ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Era teyanditulaze bino byonna, wadde okutubuulira kaakano ebiri nga bino.” Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi n'amutuuma erinnya Samusooni. Omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa. Omwoyo gwa Mukama ne gutandika okumuwa amaanyi ng'ali wakati wa Zora ne Estawoli mu Mahanedani. Olumu Samusooni n'aserengeta e Timuna, n'alaba omuwala Omufilistiya, n'addayo eka, n'agamba kitaawe ne nnyina nti: “Ndabye omuwala Omufilistiya e Timuna. Kale mumpasize oyo.” Naye kitaawe ne nnyina ne bamubuuza nti: “Lwaki ogenda okuwasa omukazi mu Bafilistiya abatali bakomole? Tewali muwala mu ba kika kyaffe, wadde mu bantu baffe bonna?” Naye Samusooni n'agamba kitaawe nti: “Mpasiza oyo, kubanga gwe nsiimye.” Naye kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nga Mukama ye yasindika Samusooni okukola ekyo, kubanga yali anoonya ensonga okulwanyisa Abafilistiya. Mu biro ebyo, Abafilistiya nga be bafuga Yisirayeli. Awo Samusooni n'aserengeta ne kitaawe ne nnyina e Timuna. Bwe baali bayita mu nnimiro z'emizabbibu, n'awulira empologoma envubuka ng'ewuluguma. Amangwago omwoyo gwa Mukama ne gumuwa amaanyi, n'agitaagulataagula, ng'ataagulataagula embuzi ento, nga talina kintu mu ngalo ze. Kyokka n'atabuulira bazadde be ky'akoze. N'agenda n'anyumya n'omuwala, n'amusiima. Ebbanga bwe lyayitawo, n'addayo okumuleeta. N'akyama okulaba empologoma gye yatta. Mu mulambo gwayo n'asangamu enjuki n'omubisi gwazo. N'agutoolako n'engalo ze, n'agulya ng'atambula. N'agenda eri kitaawe ne nnyina, n'abawaako ne balya. Kyokka n'atababuulira ng'omubisi aguggye mu mulambo gw'empologoma. Kitaawe n'agenda mu maka g'omuwala, Samusooni n'akolerayo embaga, kubanga abawasa bwe batyo bwe baakolanga. Abafilistiya bwe baamulaba, ne baweereza abavubuka amakumi asatu okubeera naye. Samusooni n'abagamba nti: “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko. Bwe muliyinza okukitegeera ne mukinzivuunula, ennaku omusanvu ez'embaga nga tezinnaggwaako, ndibawa engoye ennungi amakumi asatu, n'ebyambalo amakumi asatu eby'oku mbaga. Naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe mulimpa engoye ennungi amakumi asatu, n'ebyambalo amakumi asatu eby'oku mbaga.” Ne bamugamba nti: “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.” N'agamba nti: “Mu mulyi mwavaamu ekyokulya. Mu w'amaanyi mwavaamu ekiwoomerevu!” Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvuunula ekikokko. Ku lunaku olwokuna, ne bagamba muka Samusooni nti: “Sendasenda balo atuvvuunule ekikokko. Bw'otookikole, tujja kukwokya ggwe, n'ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutwavuwaza?” Muka Samusooni n'agenda gy'ali ng'akaaba amaziga, n'agamba nti: “Tonjagala, onkyawa bukyayi! Wakokkera ab'eggwanga lyange ekikokko, n'otombuulira kye kitegeeza!” N'amugamba nti: “Saabuulira kitange wadde mmange, ggwe nnaabuulira?” Omukazi n'akaabanga olw'ekyo buli lunaku, okumalako ennaku omusanvu ez'embaga. Ku lunaku olw'omusanvu n'amubuulira, kubanga yamwetayirira nnyo. Omukazi n'abuulira ab'eggwanga lye. Ku lunaku olw'omusanvu, abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Samusooni enjuba nga tennagwa nti: “Ekisinga omubisi gw'enjuki obuwoomerevu kiki? N'empologoma kiki ekigisinga amaanyi?” Samusooni n'addamu nti: “Singa temwalimya nte yange n'ekikokko kyange temwandikivumbudde!” Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'aserengeta e Asukelooni, n'attayo abasajja amakumi asatu, n'abambula, engoye zaabwe n'aziwa abasajja abavvuunula ekikokko kye. Obusungu ne bumutikka, n'addayo mu maka ga kitaawe. Mukazi we ne bamuwa munne, eyali mukwano gwe ennyo. Awo ebbanga bwe lyayitawo, Samusooni n'agenda okukyalira mukazi we mu makungula g'eŋŋaano, ng'amutwalidde embuzi ento. N'agamba kitaawe w'omukazi nti: “Njagala kuyingira mu kisenge kya mukazi wange.” Kyokka kitaawe w'omukazi n'atamuganya kuyingira. N'agamba Samusooni nti: “Nze nalowooza nga wamukyayira ddala, ne mmuwa munno. Naye muganda we omuto ye asinga obulungi. Gw'oba otwala mu kifo ky'oli.” Samusooni n'abagamba nti: “Ku mulundi guno sigenda kuvunaanibwa olw'akabi ke nnaakola Abafilistiya!” Awo n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'asiba bibiri bibiri emikira, n'ateeka ebitawuliro mu bifundikwa. Bwe yamala okukoleeza omuliro ku bitawuliro, n'abita okugenda mu nnimiro z'eŋŋaano ez'Abafilistiya. Bw'atyo n'ayokya ebinywa by'eŋŋaano ekunguddwa, era n'eyo ekyali mu nnimiro, wamu n'ennimiro z'emiti emizayiti. Awo Abafilistiya ne beebuuza nti: “Akoze kino ye ani?” Ne babagamba nti: “Samusooni mukoddomi w'Omutimuna. Kubanga Omutimuna oyo yaddira muka Samusooni, n'amuwa munne wa Samusooni.” Awo Abafilistiya ne bagenda ne bookya omuliro omukazi n'ab'omu maka ga kitaawe. Samusooni n'abagamba nti: “Bwe mukoze bwe mutyo? Kale, sijja kuweera nga sinnabawoolerako ggwanga.” N'abalumba n'amaanyi mangi, n'abattamu bangi nnyo. N'agenda n'abeera mu mpuku ku kagulungujjo k'olwazi lw'e Etamu. Awo Abafilistiya ne bajja ne basiisira mu Buyudaaya, ne bazinda ekibuga Lehi. Abantu b'omu Buyudaaya ne bababuuza nti: “Lwaki mutulumbye?” Ne baddamu nti: “Tuzze okukwata Samusooni tumusibe, twesasuze bye yatukola.” Awo abasajja enkumi ssatu aba Buyudaaya ne bagenda ku mpuku, ku kagulungujjo k'e Etamu ne bagamba Samusooni nti: “Tomanyi ng'Abafilistiya be batufuga? Kale kiki ky'otukoze?” N'abaddamu nti: “Nneesasuza kye bankola.” Ne bamugamba nti: “Tuzze okukusiba tukuweeyo gye bali.” Samusooni n'agamba nti: “Mundayirire nga temunzite mmwe mwennyini.” Ne bagamba nti: “Tetujja kukutta, wabula tujja kukusiba busibi, tukuweeyo gye bali.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya, ne bamuggyayo mu mpuku. Bwe yatuuka e Lehi, Abafilistiya ne badduka okujja gy'ali nga baleekaana. Amangwago omwoyo gwa Mukama ne gumuwa amaanyi, n'akutula emiguwa egyali gimusibye emikono, ne giba ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro. N'agwikiriza oluba lw'endogoyi olubisi, n'alulonda, n'alussa abasajja lukumi. Samusooni n'agamba nti: “Oluba lw'endogoyi ndussizza abasajja lukumi. Mbatuumye entuumu n'oluba lw'endogoyi.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'asuula wansi oluba lw'endogoyi. Ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamati Lehi. Awo Samusooni n'alumwa nnyo ennyonta, n'akoowoola Mukama nti: “Ompadde obuwanguzi buno obw'amaanyi. Kaakano nfe ennyonta, nkwatibwe abatali bakomole?” Awo Mukama n'aggula ekinnya ekiri eyo e Lehi, ne muvaamu amazzi. Samusooni bwe yamala okunywa, n'awulira ng'ali bulungi, n'addamu obulamu. Oluzzi olwo ne lutuumibwa erinnya Enihakkore, oluli e Lehi n'okutuusa kati. Awo Samusooni n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu biseera by'Abafilistiya. Samusooni n'agenda e Gaaza n'alabayo omukazi malaaya, ne yeebaka naye. Ab'e Gaaza ne bamanya ng'ali eyo, ne bazinda ekifo ekyo, ne bamuteega ekiro kyonna ku mulyango gw'ekibuga nga bagamba nti: “Obudde ka bukye, tulyoke tumutte.” Kyokka Samusooni ne yeebaka okutuuka mu ttumbi. N'agolokoka n'akwata oluggi lw'emiryango gy'ekibuga, n'alusimbulamu n'emyango gyalwo gyombi n'ebisiba, n'abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso ga Heburooni. Ebyo bwe byaggwa, Samusooni n'aganza omukazi mu kiwonvu ky'e Soreki, erinnya lye Delila. Abakungu b'Abafilistiya ne bagenda eri omukazi oyo, ne bamugamba nti: “Mukemereze omanye amaanyi amangi mwe gasibuka, oba nga tuyinza okumusobola, tumusibe abe nga takyeyinza. Buli omu ku ffe ajja kukuwa ebitundu bya ffeeza kikumi.” Awo Delila n'agamba Samusooni nti: “Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, n'ekiyinza okukusiba n'oba nga tokyeyinza.” Samusooni n'agamba nti: “Bwe bansibya enkolokolo empya omusanvu ezitakaze, nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.” Awo abakungu b'Abafilistiya ne baleetera Delila enkolokolo empya musanvu ezitakaze, n'azimusibya. Omukazi era yalinawo abasajja abateeze mu kisenge ekirala. N'aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuguddeko!” Samusooni n'akutula enkolokolo ng'omuguwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gukutte omuliro. Awo amaanyi ge ne gatategeerekeka. Delila n'agamba Samusooni nti: “Ndaba ng'ombuzaabuza era onnimba! Kaakano nkwegayiridde, mbuulira ekiyinza okukusiba.” N'amugamba nti: “Bwe bansibya emiguwa emiggya egitakozesebwangako, nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.” Awo Delila n'addira emiguwa emiggya n'amusiba. N'aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuguddeko!” Abasajja era baali bateeze mu kisenge ekirala. Kyokka n'akutula emiguwa mu mikono gye ng'ewuzi. Delila n'agamba Samusooni nti: “Okutuusa kati ombuzaabuza era onnimba bulimbi. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N'amugamba nti: “Emivumbo omusanvu egy'enviiri zange bw'ogiruka n'engoye ku muti okulukirwa, n'oginyweza n'olubambo, nja kuba munafu, mbe ng'omusajja omulala yenna.” Delila n'amwebasa, n'addira emivumbo omusanvu egy'enviiri ze n'agiruka n'engoye, n'azisibira ddala n'olubambo, n'alyoka aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuliko!” Samusooni n'azuukuka mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw'omuti ogulukirwako n'engoye ezirukiddwa. Awo omukazi n'agamba nti: “Oyinza otya okugamba nti onjagala ate nga tonneesiga? Waakambuzaabuza emirundi gino esatu n'otombuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.” Bw'atyo omukazi n'amutawaanyanga buli lunaku ng'amubuuza, okutuusa lwe yeetamirwa ddala. N'amubuulira byonna, n'amugamba nti: “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi Muwonge eri Katonda okuviira ddala mu lubuto lwa mmange. Bwe mmwebwako enviiri, amaanyi gange ganvaako, ne nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.” Delila bwe yamanya ng'amubuulidde byonna, n'atumira abakungu b'Abafilistiya nti: “Mukomewo omulundi guno gumu gwokka kubanga ambuulidde byonna.” Awo ne bajja gy'ali, nga n'ensimbi bazze nazo. Delila ne yeebasa Samusooni ng'amuleze, n'ayita omusajja n'amwa emivumba omusanvu egy'enviiri za Samusooni. N'atandika okumusiba nga takyeyinza, amaanyi ge ne gamuvaako. Awo omukazi n'aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuliko!” N'azuukuka mu tulo, n'alowooza nti: “Nja kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Yali tamanyi nga Mukama amulese! Abafilistiya ne bamukwata ne bamuggyamu amaaso. Ne bamutwala e Gaaza, ne bamusibya enjegere z'ekikomo, ne bamuteeka ku gw'okuseeranga ku lubengo mu kkomera. Kyokka enviiri ze ne zitandika okuddako okumera. Awo abakungu b'Abafilistiya ne bakuŋŋaana okusanyuka n'okuwaayo ekitambiro ekinene eri lubaale waabwe Dagoni, nga bagamba nti: “Lubaale waffe atuwadde okuwangula Samusooni omulabe waffe.” Samusooni n'agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono nti: “Leka nkwate ku mpagi eziwanirira ennyumba, nzeesigameko.” Ennyumba yali ejjudde abasajja n'abakazi. Era abakungu b'Abafilistiya baali bali awo bonna. Ne waggulu ku kasolya kwaliko abasajja n'abakazi ng'enkumi ssatu, abaali batunuulira Samusooni ng'abasanyusaamu. Awo Samusooni ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda, njijukira! Nkwegayirira ompe amaanyi gange omulundi guno gumu gwokka ayi Katonda, mu kikolwa kino ekimu mpoolere eggwanga ku Bafilistiya olw'okunzigyamu amaaso gange gombi!” Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati, eziwaniridde ekizimbe, n'azimalirako amaanyi gonna, omukono gwe ogwa ddyo ku emu, n'ogwa kkono ku ndala. N'aleekaana, n'agamba nti: “Ka nfiire wamu n'Abafilistiya!” N'asindika n'amaanyi ge gonna, ennyumba n'egwa ku bakungu, ne ku bantu bonna abaali omwo. Samusooni bw'atyo n'atta bangi mu kufa kwe, okusinga be yatta nga mulamu. Awo baganda be n'ab'ennyumba ya kitaawe bonna ne bajja okutwala omulambo gwe. Ne bamutwala ne bamuziika wakati w'e Zora ne Esutawoli, ku biggya bya kitaawe Manowa. Yali akulembedde Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri. Waliwo omusajja erinnya lye Mikka, eyali ow'omu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. N'agamba nnyina nti: “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi bye baakutwalako n'okolima nga mpulira, nze nabitwala era mbirina.” Nnyina n'agamba nti: “Mukama akuwe omukisa, mwana wange.” Omusajja n'azza ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi eri nnyina. Nnyina n'agamba nti: “Okuggya ekikolimo ku mwana wange, mponga eri Mukama ffeeza ono, akolebwemu ekifaananyi ekyole ekibikkiddwako ffeeza omusaanuuse. Kale kaakano ffeeza mmukuddiza.” Awo Mikka bwe yazza ebitundu bya ffeeza eri nnyina, nnyina n'atoolako ebitundu ebikumi bibiri, n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'akola ekifaananyi ekyole, n'akibikkako ffeeza, ekifaananyi ekyo ne kiteekebwa mu nnyumba ya Mikka. Omusajja oyo Mikka, yalina essinzizo lye. N'akola ebifaananyi eby'okusinza. N'ayawula omu ku batabani be, n'afuuka kabona we. Mu kiseera ekyo, tewaali kabaka mu Yisirayeli. Buli muntu yakolanga nga bw'alaba. Kale waaliwo omuvubuka Omuleevi, eyali abeera mu Betilehemu mu Buyudaaya. N'avaayo n'anoonya awalala gy'anaabeera. Bwe yali ng'atambula, n'atuuka ku nnyumba ya Mikka mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Mikka n'amubuuza nti: “Ova wa?” N'addamu nti: “Ndi Muleevi w'e Betilehemu. Nnoonya walala gye nnyinza okubeera.” Mikka n'amugamba nti: “Beera nange, obeere omubuulirizi era kabona wange. Nnaakuwanga ebitundu kkumi ebya ffeeza omwaka, n'ebyokwambala n'ebyokulya.” Awo omulenzi Omuleevi n'akkiriza okubeera mu nnyumba y'omusajja oyo; era n'abeerera ddala ng'omu ku batabani be. Mikka n'amuteekawo abeere kabona we, omulenzi oyo Omuleevi, n'abeera mu nnyumba ya Mikka. Mikka n'agamba nti: “Kaakano nga bwe nnina Omuleevi nga ye kabona wange, mmanyi nga Mukama ajja kunkolera ebirungi.” Mu biseera ebyo, tewaali kabaka mu Yisirayeli. Mu nnaku ezo ab'Ekika kya Daani baali bakyanoonya ekitundu eky'okubeeramu, baali tebannafuna kitundu kyabwe mu Bika bya Yisirayeli. Awo ab'omu Kika kya Daani bonna ne beerondamu abasajja abazira bataano, ne babatuma okuva mu Zora ne mu Esutawoli okuketta ensi n'okugyetegereza. Bwe baatuuka mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ne babeera mu nnyumba ya Mikka. Bwe baali bali eyo, ne beetegereza enjogera y'omuvubuka Omuleevi, ne bamutuukirira, ne bamubuuza nti: “Okola ki wano? Era ani yakuleeta wano?” N'addamu nti: “Twategeeragana ne Mikka: ampa empeera, ne mba kabona we.” Ne bamugamba nti: “Tukwegayiridde, buuza Katonda atumanyise oba ng'olugendo lwaffe lunaaba n'omukisa.” Kabona n'abagamba nti: “Temweraliikirira, Mukama abalabirira mu lugendo lwammwe.” Awo abasajja abo abataano ne bagenda, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng'abantu baayo bali mirembe ng'ab'e Sidoni bwe bali. Baali bakkakkamu, nga ba mirembe, nga balina byonna bye beetaaga. Baali beesudde nnyo Abasidoni, era nga tewali bantu balala be bakolagana nabo. Abasajja abataano bwe baddayo e Zora, ne Esutawoli, baganda baabwe ne bababuuza bye bazudde. Ne baddamu nti: “Musituke, tugende tulumbe Layisi. Ensi tumaze okugiraba, nnungi nnyo. Temugayaalira wano. Mwanguwe! Mugende mugiwambe. Bwe munaatuukayo, mujja kusanga abantu nga tebalina ke beekengera. Ensi ngazi. Erimu buli kintu, omuntu ky'ayinza okwetaaga. Katonda amaze okugigabula mu mikono gyammwe.” Awo abasajja lukaaga ab'omu Kika kya Daani ne basitula okuva e Zora ne Esutawoli, nga balina ebyokulwanyisa. Ne bambuka, ne basiisira mu bukiikaddyo obwa Kiriyati Yaarimu mu Buyudaaya. Kyebava bayita ekifo ekyo Enkambi ya Daani n'okutuusa kati. Ne bavaayo, ne batuuka ku nnyumba ya Mikka mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Abasajja abataano abaali bagenze okuketta ensi y'e Layisi, ne bagamba bannaabwe nti: “Mubadde mumanyi nga mu emu ku nnyumba zino mulimu ekifaananyi ekyole, ekibikkiddwako ffeeza? Mulimu n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, era n'ekkanzu. Kale nno mulowooze kye mugwanira okukola.” Awo ne bayingira mu nnyumba ya Mikka, omuvubuka Omuleevi mwe yabeeranga, ne bamubuuza nga bw'ali. Olwo abasajja bali olukaaga ab'omu Kika kya Daani abalina ebyokulwanyisa, baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki Abasajja abataano abakessi ne bambuka, ne bayingira mu nnyumba, ne batwala ekifaananyi ekyole, ekibikkiddwako ffeeza, n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, n'ekkanzu, nga kabona ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki, wamu n'abasajja olukaaga, abalina ebyokulwanyisa. Abasajja bali bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka, ne baggyamu ekifaananyi ekyole, n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, era n'ekkanzu, kabona n'ababuuza nti: “Mukola ki?” Ne bamuddamu nti: “Sirika, tonyega! Jjangu naffe, obeere kabona waffe. Tekisinga okuba kabona w'Ekika ky'Abayisirayeli ekiramba, mu kifo ky'okuba kabona w'ennyumba y'omuntu omu?” Kabona n'asanyuka, n'atwala ekkanzu n'ekifaananyi ekyole, n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, n'agenda wamu nabo. Awo ne bakyusa, ne bagenda nga bakulembezzaamu abaana abato n'ensolo n'ebintu. Bwe baali batambudde olugendo oluwerako okuva ku nnyumba ya Mikka, Mikka n'ayita baliraanwa be, ne bawondera era ne batuuka ab'omu Kika kya Daani, ne babakoowoola. Ab'omu Kika kya Daani ne bakyuka ne batunula emabega, ne bagamba Mikka nti: “Obadde otya okujja n'ekibiina ekinene bwe kityo?” Mikka n'addamu nti: “Munzigyeeko kabona ne balubaale bange be nakola ne mubatwala, ne sisigaza kantu! Kale ate mumbuuza mutya nti: Obadde otya?” Ab'omu Kika kya Daani ne bagamba nti: “Ekisinga, toyongera kwogera, sikulwa ng'abasajja bano abakambwe bakulumba ne bakutta ggwe n'ab'omu nnyumba yo.” Ab'omu Kika kya Daani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamusinze nnyo amaanyi, n'akyuka n'addayo ewuwe. Ab'omu Kika kya Daani bwe baamala okutwala ebintu bya Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne balumba Layisi, ekibuga eky'abantu abakkakkamu ab'emirembe, ne babatta, ekibuga ne bakyokya omuliro. Tewaaliwo bajja kubataasa, kubanga Layisi kyali mu kiwonvu ekiriraanye Beturihobu, nga kyesudde nnyo Sidoni, ate ng'abaayo tewali bantu balala be bakolagana nabo. Ab'omu Kika kya Daani ne bazimba buggya ekibuga, ne babeera omwo. Erinnya ly'ekibuga eryali Layisi ne balikyusa, ne bakituuma Daani mutabani wa Yakobo. Abadaani ne basimba ekifaananyi kiri ekyole okukisinzanga. Yonataani mutabani wa Gerusoomu, era muzzukulu wa Musa n'aba kabona waabwe. Ye n'abasika be, ne baba bakabona mu b'Ekika kya Daani, okutuusa abantu lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. Ekifaananyi, Mikka kye yalina, ne kisigalawo ebbanga lyonna, Weema ya Katonda lye yabeerawo mu Siilo. Awo mu nnaku ezo nga tewannaba kabaka mu Yisirayeli, ne wabaawo Omuleevi, eyabeeranga ewala mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. N'aggya omuwala mu Betilehemu mu Buyudaaya n'amuwasa. Omuwala n'ayenda, n'anyiiza bba, n'amunobako n'addayo mu nnyumba ya kitaawe mu Betilehemu mu Buyudaaya n'amalayo emyaka ena. Bba n'asituka n'agenda okumuwooyawooya amukomyewo. N'atwala omuddu we n'endogoyi bbiri. Omuwala n'amuyingiza mu nnyumba ya kitaawe. Kitaawe w'omuwala bwe yamulaba, n'amwaniriza. Kitaawe w'omuwala n'alwisa mukoddomi we, n'amukkirizisa okumalayo ennaku ssatu. Bwe batyo ne balya ne banywa, ne basulayo. Mu makya g'olunaku olwokuna, ne bagolokoka nga bukyali, ne beetegeka okugenda. Kyokka kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti: “Mumale okulya ku kamere mulyoke mugende.” Awo ne batuula, ne balya ne banywa bombi wamu. Kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti: “Nkwegayiridde kkiriza osule, osanyukeko.” Omusajja n'agolokoka okugenda, kyokka kitaawe w'omuwala n'amwegayirira n'asulayo nate. Ku lunaku olwokutaano n'agolokoka nkya mu makya okugenda. Kitaawe w'omuwala n'amugamba nti: “Sanyukako, nkwegayiridde. Mubeere wano okutuusa obudde lwe bunaawungeera.” Bwe batyo ne balya bombi. Omusajja ne mukazi we n'omuddu bwe baasituka okugenda, kitaawe w'omuwala n'agamba nti: “Laba, kaakano obudde buubuno buwungedde. Mbeegayiridde musule. Obudde bunaatera okuziba. Beera wano osanyuke. Enkya mukeere okutambula, oddeyo eka.” Naye omusajja n'atakkiriza kusula kiro kirala. Awo n'asituka n'atambula ng'ali ne mukazi we n'omuddu we n'endogoyi zaabwe ebbiri, eziriko amatandiiko, ne boolekera Yebusi, ye Yerusaalemu. Bwe baatuuka e Yebusi ng'obudde bugenze nnyo, omuddu n'agamba mukama we nti: “Lwaki tetukyama ne tusula mu kibuga kino eky'Abayebusi?” Awo ne batambula ne bayisa Yebusi ne beeyongerayo. Obudde ne bubazibirira nga bali kumpi ne Gibeya mu kitundu ky'ab'Ekika kya Benyamiini. Ne bakyama eyo gye baba basula. Ne bayingira mu kibuga, ne batuula mu kibangirizi, ne wataba abayingiza mu nnyumba ye okubasuza. Bwe baali bakyali awo, omusajja omukadde n'ajja ng'ava mu mirimu gye mu nnimiro akawungeezi. Omusajja oyo okusooka, yali wa mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, naye olwo yali abeera mu Gibeya. Abantu baayo abalala baali ba mu Kika kya Benyamiini. Omusajja omukadde bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba omuyise oli, mu kibangirizi ky'ekibuga, n'amubuuza nti: “Ova wa? Era ogenda wa?” Omuleevi n'addamu nti: “Tuva Betilehemu mu Buyudaaya, nga tuddayo eka ewala mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Naye tewali atuyingizza wuwe kutusuza, wadde nga tulina omuddo n'emmere y'endogoyi zaffe. Era nnina emmere n'omwenge ebyange ne mukazi wange, n'omuddu wange. Tulina byonna bye twetaaga.” Omusajja omukadde n'agamba nti: “Mujje ewange, nze nja kubalabirira. Temujja kusula mu kibangirizi.” Awo n'abayingiza mu nnyumba ye, endogoyi zaabwe n'aziwa ebyokulya. Bo ne banaaba ebigere, ne balya, ne banywa. Awo bwe baali nga basanyuka, abasajja ab'omu kibuga abagwenyufu ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, ne bakonkona ku luggi. Ne boogera ne nnannyini nnyumba, omukadde oli, nga bamugamba nti: “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, twebake naye.” Omusajja nnannyini nnyumba n'afuluma n'abagamba nti: “Nedda, bannange! Mbeegayiridde, temukola kibi kyenkanidde awo! Omusajja ono mugenyi wange. Temukola kya bugwenyufu kino. Mulabe, waliwo mukazi we, ne muwala wange akyali embeerera. Abo be nnaafulumya kaakano, ne mubakolako kye mwagala. Naye omusajja ono temumukolako kya bugwenyufu ekyenkana awo!” Naye abasajja ne batamuwuliriza. Awo Omuleevi n'akwata mukazi we, n'amufulumya gye bali. Ne bamwebakako, ne bamukolako eby'effujjo ekiro kyonna. Obudde bwe bwali bukya ne bamuta. Awo obudde nga bukya, omukazi n'ajja n'agwa awo ku luggi lw'ennyumba y'omusajja omukadde, omwali bba, n'abeera awo okutuusa lwe bwakya. Awo bba bwe yagolokoka ku makya n'aggulawo oluggi, n'afuluma okugenda, n'asanga mukazi we, ng'agudde mu maaso g'ennyumba, emikono gye nga gikunukkiriza omulyango. N'amugamba nti: “Golokoka tugende.” Kyokka nga taddamu. N'amuteeka ku ndogoyi ye, n'agenda ewuwe. Awo bwe yatuuka eka, n'ayingira mu nnyumba ye, n'aggyayo akambe, n'akwata omulambo gwa mukazi we n'agusalamu ebitundu kkumi na bibiri, buli kika kya Yisirayeli n'akiweerezaako ekitundu. Awo bonna abaalaba ekyo ne bagamba nti: “Ekiri nga kino tekibangawo era tekirabibwangako bukya Bayisirayeli bava mu Misiri. Mukirowooze, muteese, tulabe eky'okukola!” Awo Abayisirayeli bonna, okuva ku Daani mu bukiika obwa kkono okutuuka ku Beruseba mu bukiikaddyo, n'okuva mu nsi y'e Gileyaadi mu buvanjuba, ekibiina kyonna ne kikuŋŋaana ng'omuntu omu, mu maaso ga Mukama e Mizupa. Abakulembeze b'Ebika bya Yisirayeli byonna baaliwo mu lukuŋŋaana lw'abantu ba Katonda, abaserikale emitwalo ena abatambuza ebigere. Mu kiseera ekyo ab'Ekika kya Benyamiini ne bawulira ng'Abayisirayeli abalala bakuŋŋaanidde e Mizupa. Abayisirayeli ne babuuza nti: “Tubuulire, omusango guno gwazzibwa gutya?” Omuleevi bba w'omukazi eyattibwa, n'addamu nti: “Natuuka e Gibeya mu kitundu kya Benyamiini okusulayo, nga ndi wamu ne mukazi wange. Abasajja b'e Gibeya ne bannumba ne bazingiza ennyumba mwe nali ekiro, okugyetooloola. Baali baagala okunzita, ne bakola eby'effujjo ku mukazi wange, n'afa. Ne ntwala omulambo gwe, ne ngusalaasalamu ebitundu, ne mbiweereza ensi yonna eyagabanibwa Yisirayeli, kubanga baakola eky'ekivve era eky'obusirusiru mu Yisirayeli. Kale Abayisirayeli mwenna, muteese mulabe eky'okukola.” Abantu bonna ne basituka ng'omuntu omu, ne bagamba nti: “Tewali n'omu mu ffe anaddayo mu weema ye oba mu nnyumba ye. Naye kye tunaakola Gibeya kye kino: tujja kugenda tukirwanyise nga tukubye akalulu. Ekimu eky'ekkumi ku basajja mu Yisirayeli kijja kusakira eggye emmere, abalala bonna bagende babonereze Gibeya ekya Benyamiini, olw'ekikolwa kino eky'obugwenyufu, kye baakola mu Yisirayeli.” Awo abasajja bonna ab'omu Yisirayeli ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu okulumba ekibuga. Awo Ebika bya Yisirayeli ne bituma ababaka mu kitundu kya Benyamiini kyonna okubagamba nti: “Kibi ki kino kye mwakola? Kale kaakano muweeyo abasajja abagwenyufu abaali mu Gibeya tubatte okuggyawo ekibi kino mu Yisirayeli.” Naye aba Benyamiini ne bagaana okuwuliriza Abayisirayeli bannaabwe abalala. Ne bava mu bibuga bya Benyamiini byonna, ne bakuŋŋaanira mu Gibeya okulwanyisa Abayisirayeli abalala. Mu bibuga byabwe ne bayitayo abaserikale emitwalo ebiri mu kakaaga ku lunaku olwo. Okwongereza ku abo, ab'e Gibeya ne bakuŋŋaanya abasajja lusanvu abalondemu. Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvuumuulo akube oluviiri, n'atasubwa. Ebika bya Yisirayeli ebirala ne bikuŋŋaanya abalwanyi abazira emitwalo amakumi ana. Abayisirayeli ne beesitula ne bambuka e Beteli okusinza, ne babuuza Katonda nti: “Kika ki ekiba kisooka okulumba Ababenyamiini?” Ne Mukama n'addamu nti: “Ekika kya Yuda kye kiba kisooka.” Ku lunaku olwaddako, Abayisirayeli ne bakeera mu makya, ne basiisira okumpi ne Gibeya. Ne beesowolayo okulwanyisa Ababenyamiini. Ne basimba ennyiriri okulwanyisa ekibuga Gibeya. Ababenyamiini ne bava Gibeya okulwana, ne batta abaserikale emitwalo ebiri ab'Abayisirayeli olunaku olwo. Awo Abayisirayeli ne bataterebuka, ne basimba ennyiriri nate mu kifo mwe baazisimbye ku lunaku olwasooka. Basooka kwambuka gye basinziza, ne bakungubagira mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi. Ne babuuza Mukama nti: “Tuddemu okulwanyisa baganda baffe Ababenyamiini?” Mukama n'addamu nti: “Mugende mubalwanyise.” Ne boolekera Ababenyamiini olunaku olwokubiri. N'Ababenyamiini ne bava mu Gibeya okubalwanyisa omulundi ogwokubiri. Ku mulundi guno, ne batta abaserikale ba Yisirayeli omutwalo gumu mu kakaaga. Awo ab'eggye lyonna ery'Abayisirayeli ne bambuka e Beteli, ne bakungubaga. Ne babeera eyo mu maaso ga Mukama, ne batalya okutuusa akawungeezi. Ne bawaayo mu maaso ga Mukama ebitambiro ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Awo Abayisirayeli ne bateekawo abaserikale okuteega Gibeya ku njuyi zonna. Awo ne bambuka okulwanyisa Ababenyamiini olunaku olwokusatu. Ne basimba ennyiriri zaabwe nga boolekedde Gibeya ng'olulala. Ababenyamiini ne bavaayo okulwana, ne basikirizibwa okwesuula ekibuga. Ng'olulala, ne batandika okukubira n'okuttira abamu ku Bayisirayeli awatangaavu, ku luguudo olumu olwambuka e Beteli, ne ku lulala olugenda e Gibeya. Ne battayo Abayisirayeli ng'amakumi asatu. Ababenyamiini ne bagamba nti: “Tubawangudde nga bwe twakola ku mirundi egyasooka.” Naye Abayisirayeli ne bagamba nti: “Tudduke, tubasikirize okwesuula ekibuga, badde mu nguudo.” Abayisirayeli bonna ne baseguka mu kifo kyabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe e Baalitamari. Olwo Abayisirayeli abaateeze ne bafubutuka mu bifo byabwe ebugwanjuba wa Gibeya. Abasajja lukumi abaalondebwa mu Yisirayeli yonna, ne balumba Gibeya. Ne balwana nnyo. Naye Ababenyamiini baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi. Mukama n'awa Yisirayeli okuwangula Ababenyamiini ku lunaku olwo, Abayisirayeli ne batta abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi ku balwanyi Ababenyamiini. Awo Ababenyamiini ne bamanya nga bawanguddwa. Abayisirayeli baasegulira Ababenyamiini, kubanga baali beesiga abateezi, be baateegesa ku Gibeya. Abateezi bano badduka mangu, ne bazinda Gibeya, ne batta abaakirimu bonna. Eggye ly'Abayisirayeli n'abateezi, baali balagaanye akabonero, nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga, Abayisirayeli abali mu ddwaniro nga bakyusa. Olwo Ababenyamiini baali bamaze okutta Abayisirayeli ng'amakumi asatu. ne bagambagana nti: “Tubawangudde, nga bwe twakola mu kulwanagana okwasooka.” Naye olwo akabonero ne kalabika. Ekire ky'omukka ekiri ng'empagi ne kinyooka okuva mu kibuga okutuuka ku ggulu. Ababenyamiini bwe baakyuka okutunula emabega, ne balaba ekibuga kyonna nga kiggya. Awo Abayisirayeli ne bakyuka. Ababenyamiini ne bawuniikirira nga balaba akabi kabatuuseeko! Awo ne bakuba Abayisirayeli amabega, baddukire mu kkubo eriraga mu ddungu, naye nga tebalina gye badda! Ne bakwatibwa wakati w'eggye ly'Abayisirayeli n'abateezi abaali bava mu kibuga, ne bazikirizibwa. Abayisirayeli ne bazingiza Ababenyamiini enjuyi zonna, ne babawondera awatali kuweera, okutuusa mu kitundu eky'ebuvanjuba wa Gibeya, nga bagenda babatta. Mu Babenyamiini ne mufaamu abalwanyi abazira omutwalo gumu mu kanaana. Abalala ne bakyuka ne badduka nga badda awatangaavu, nga boolekedde Olwazi lwa Rimmoni. Enkumi ttaano ne battibwa ku luguudo. Abayisirayeli ne bongera okuwondera abaasigaddewo, okutuuka e Gidoma, ne babattamu enkumi bbiri. Bwe batyo Ababenyamiini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira. Naye abasajja lukaaga be baasobola okuddukira awatangaavu ne batuuka ku Lwazi lwa Rimmoni, ne babeera eyo emyezi ena. Abayisirayeli ne bakyuka nate okulwanyisa Ababenyamiini abaasigalawo, ne babatta bonna, abasajja n'abakazi, n'abaana abato, obutataliza wadde ensolo. Era ne bookya ebibuga byonna mu kitundu ekyo. Abayisirayeli baali balayiridde e Mizupa nti: “Tewali n'omu mu ffe aliwa wa mu Kika kya Benyamiini muwala we okumuwasa.” Awo Abayisirayeli ne bagenda e Beteli, ne batuula eyo mu maaso ga Mukama, okutuusa akawungeezi. Ne batema emiranga ne bakaaba nnyo amaziga, nga bagamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kivudde ku ki Ekika kya Benyamiini okusaanawo mu Yisirayeli?” Enkeera mu makya, abantu ne bazimba alutaari, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Ne babuuza nti: “Baani ab'omu Bika bya Yisirayeli, abataayambuka mu lukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa?” Baali beeyamye obweyamo obw'amaanyi nti buli atalyambuka Mizupa, yali wa kuttibwa. Abayisirayeli ne basaalirwa olwa baganda baabwe Ababenyamiini, ne bagamba nti: “Olwaleero Yisirayeli afiiriddwa ekimu ku Bika bye! Abasajja Ababenyamiini abasigaddewo, tunaabalabira tutya abakazi ab'okuwasa, ng'ate twalayirira Mukama obutabawa bawala baffe?” Ne babuuza nti: “Baani ab'omu Bika bya Yisirayeli abataayambuka Mizupa mu lukuŋŋaana mu maaso ga Mukama?” Ne bazuula nga mu Yabesi eky'e Gileyaadi tewali n'omu yajja mu lusiisira mu lukuŋŋaana. Kubanga abantu bwe baabalibwa, tewaaliwo n'omu ku batuuze b'omu Yebusi eky'e Gileyaadi. Ekibiina ne kitumayo abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri ku abo abasinga obuzira, ne babalagira nti: “Mugende mutte ab'omu Yebusi eky'e Gileyaadi, obutataliza mukazi na mwana. Kino kye muba mukola: muzikiririze ddala buli musajja na buli mukazi atali mbeerera.” Mu batuuze b'omu Yebusi eky'e Gileyaadi ne basangayo abawala abato embeerera ebikumi bina, ne babaleeta mu lusiisira e Siilo, ekiri mu nsi ya Kanaani. Awo ekibiina kyonna, ne kitumira Ababenyamiini abaali ku lwazi lw'e Rimmoni obubaka obw'okukomya olutalo. Awo Ababenyamiini ne bakomawo, Abayisirayeli abalala ne babawa abawala ab'e Yebusi abatattibwa, naye ne batabamala bonna. Abantu ne basaalirwa olw'Ababenyamiini, kubanga Mukama yali aggyeewo okwegatta mu Bika bya Yisirayeli! Awo abakulembeze mu kibiina ne bagamba nti: “Tewakyaliwo bakazi mu Babenyamiini. Abasajja abasigaddewo, tunaabalabira wa abakazi? Tusaanye okubaako kye tukolawo okukuuma Ababenyamiini abaasigalawo, ekika kireme okusangulibwawo mu Yisirayeli. Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe kubawasa, kubanga Abayisirayeli twalayira ne tukolimira buli aliwa Omubenyamiini muwala we okumuwasa.” Ne bagamba nti: “Waliwo embaga ya Mukama eya buli mwaka mu Siilo.” Siilo kiri mu bukiikakkono obwa Beteli, n'obukiikaddyo obwa Lebona, mu buvanjuba bw'oluguudo oluva e Beteli okwambuka e Sekemu. Awo ne bagamba Ababenyamiini nti: “Mugende muteegere mu nnimiro z'emizabbibu, mutunule. Abawala b'e Siilo bwe bafuluma okuzina amazina, ku bawala abo, mugende nabo mu kitundu kya Benyamiini. Bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balijja gye muli okuvunaana, mubagambanga nti: ‘Tubeegayiridde, mubatulekere, kubanga tetwababanyagaako mu lutalo okubafuula bakazi baffe. Ate nga bwe mutaabatuwa, temulina musango gwa kumenya bweyamo bwammwe.’ ” Awo Ababenyamiini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku bawala abaali bazina, ne batwala. Ne baddayo mu kitundu kyabwe, ne bazimba ebibuga ne babeera omwo. Awo Abayisirayeli abalala ne bavaayo, buli omu n'adda mu bantu be, ne mu kibanja kye. Mu nnaku ezo tewaali kabaka mu Yisirayeli. Buli muntu yakolanga nga bw'ayagala. Awo olwatuuka mu nnaku ezo, abalamuzi nga be bakulembeze mu Yisirayeli, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja eyabeeranga mu Betilehemu eky'omu Buyudaaya, n'agenda ne mukazi we, ne batabani baabwe babiri, okubeera mu nsi y'e Mowaabu. Omusajja oyo yali ayitibwa Elimeleki, mukazi we nga ye Nawomi, batabani baabwe bombi, omu nga ye Maaloni, omulala nga ye Kiliyooni. Abantu abo baali ba mu nnyumba ya Efuraati. Baava mu Betilehemu eky'omu Buyudaaya, ne batuuka mu nsi y'e Mowaabu. Bwe baali bali eyo, Elimeleki n'afa, Nawomi n'asigala ne batabani be bombi. Ne bawasa abakazi Abamowaabu, Orupa ne Ruusi. Nga wayiseewo emyaka nga kkumi, Maaloni ne Kiliyooni nabo ne bafa. Bw'atyo Nawomi n'aviibwako bba ne batabani be bombi. Awo Nawomi ng'ali mu nsi y'e Mowaabu, n'awulira nga Mukama yawa abantu be omukisa, ne babaza emmere nnyingi. Kyeyava asituka ne bakaabaana be, ave mu nsi y'e Mowaabu. Bakaabaana be baasituka wamu naye okuddayo mu Buyudaaya. Kyokka bwe baali mu kkubo, Nawomi n'abagamba nti: “Muddeeyo ewammwe, mubeere ne bannyammwe. Mukama abakwatirwe ekisa, nga nammwe bwe mwakikwatirwa nze, era n'abo abaafa. Era Mukama asobozese buli omu ku mmwe okuddayo okufumbirwa, n'okufuna amaka.” N'abanywegera okubasiibula. Naye bo ne batandika okutema emiranga n'okukaaba amaziga, ne bamugamba nti: “Nedda, tujja kugenda naawe mu bantu bo.” Nawomi n'agamba nti: “Muddeeyo, baana bange. Lwaki mwagala okugenda nange? Mulowooza nti nkyasobola okubazaalira abalenzi babawase? Muddeeyo, baana bange, mugende, kubanga nze nkaddiye, sikyaddamu kufumbirwa. Ne bwe nandigambye nti nkyasuubira okufumbirwa, ne mba n'omusajja ekiro kino, ne nzaala abaana ab'obulenzi, kale mwandirinze okutuusa lwe bandikuze? Era ekyo kibaziyiza okufumbirwa abasajja abalala? Nedda, baana bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga Mukama nze yambonereza.” Ne baddamu okutema emiranga n'okukaaba amaziga. Awo Orupa n'anywegera nnyazaala we okumusiibula. Naye Ruusi n'amwesibako. Nawomi n'amugamba nti: “Ruusi, laba muggya wo azzeeyo mu bantu be, ne ku balubaale be. Naawe mugoberere.” Kyokka Ruusi n'addamu nti: “Tonneegayirira kukuleka, era toŋŋaana kukugoberera, kubanga gy'onoogendanga, nange gye nnaagendanga. Abantu bo, be banaabanga abantu bange. Katonda wo, ye anaabanga Katonda wange. Gy'olifiira, nange gye ndifiira, era gye balinziika. Mukama ambonereze n'obukambwe singa wabaawo ekinjawukanya naawe, okuggyako okufa.” Nawomi bwe yalaba nga Ruusi amaliridde okugenda naye, n'atayongerako kirala. Awo bombi ne batambula okutuuka e Betilehemu. Bwe baatuukayo, ekibuga kyonna ne kisasamala okubalaba. Abakazi baayo ne bagamba nti: “Ono ye Nawomi?” Nawomi n'abagamba nti: “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mara, kubanga Mukama Omuyinzawaabyonna yandeetera okubonaabona ennyo. Nava kuno nga nnina bingi, naye Mukama ankomezzaawo nga sirina kantu. Mumpitira ki Nawomi ng'ate Mukama Omuyinzawaabyonna yanneefuukira n'andabya ennaku?” Bw'atyo Nawomi bwe yakomawo okuva mu nsi y'e Mowaabu, ng'ali wamu ne Ruusi Omumowaabu, mukaamwana we. Baatuuka e Betilehemu ng'amakungula ga bbaale gatandika. Nawomi yalina muganda wa bba, gwe bayita Bowaazi, omusajja ow'amaanyi era omugagga, ow'omu nnyumba ya Elimeleki. Lwali lumu, Ruusi n'agamba Nawomi nti: “Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nkuŋŋaanye ku birimba bya bbaale, abakunguzi bye balekamu, nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa.” Nawomi n'amugamba nti: “Genda mwana wange.” Awo Ruusi n'agenda, n'atuuka mu nnimiro, n'alonda ebirimba bya bbaale, abakunguzi bye baalekamu. Awo n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi ow'omu nnyumba ya Elimeleki. Awo ne Bowaazi yennyini n'ava e Betilehemu, n'alamusa abakunguzi nti: “Mukama abeere nammwe.” Ne bamuddamu nti: “Mukama akuwe omukisa.” Bowaazi n'abuuza omuweereza we akulira abakunguzi nti: “Omuwala ono avudde wa?” Omuweereza n'addamu nti: “Ono ye muwala Omumowaabu, Nawomi gwe yakomawo naye ng'ava mu nsi y'e Mowaabu. Yansabye mmukkirize okukuŋŋaanya ebirimba bya bbaale, omwo abakunguzi mwe bamaze okusiba ebinywa. Awo n'ajja, era asiibye wano ng'akola okuva ku makya, era kati kyajje awummuleko katono mu kasiisira.” Awo Bowaazi n'agamba Ruusi nti: “Kati wulira mwana wange. Tolekangawo nnimiro eno, n'ogenda mu nnimiro ndala okulonda ebirimba, naye obeeranga wano, kumpi n'abaweereza bange abawala. Tunulanga olabe gye bakungula, obagobererenga. Nkuutidde basajja bange balemenga okukuziyiza. Era ennyonta bw'ekulumanga, ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku mazzi ge basenye.” Ruusi n'avuunama ng'obwenyi bwe butuukidde ddala ku ttaka, n'agamba Bowaazi nti: “Kivudde ku ki ggwe okunteekako omwoyo, n'okunkwatirwa ekisa, nze omugwira?” Bowaazi n'amuddamu nti: “Bambuulira dda byonna by'okoledde nnyazaala wo, kasookedde balo afa, era nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko, n'ensi mw'ozaalibwa, n'ojja okubeera mu bantu be wali tomanyiiko. Mukama akusasule olw'ebyo bye wakola. Mukama Katonda wa Yisirayeli gwe weeyuna okukukuuma, akuwe empeera enzijuvu.” Ruusi n'agamba nti: “Ondaze ekisa, mukama wange. Ondeetedde okuwulira essanyu bw'oyogedde nange eby'ekisa, wadde nga senkana n'omu ku bazaana bo!” Awo obudde obw'okulya bwe bwatuuka, Bowaazi n'agamba Ruusi nti: “Jjangu olye ku mmere, okoze ne mu nva.” Ruusi n'atuula wamu n'abakunguzi. Bowaazi n'amuweereza bbaale omusiike. Ruusi n'alya n'akkuta, era n'alemerwawo. Awo Ruusi bwe yasituka n'addayo okulonda ebirimba, Bowaazi n'agamba basajja be nti: “Mumuleke alonde n'awali ebinywa, temumuvunaana. Era mumutoolereko ne ku miganda, mugimulekere alonde.” Ruusi n'alonda ebirimba mu nnimiro okuzibya obudde. Bwe yabiwuula, n'afunamu bbaale ajjuza ekisero ekinene. N'akomawo mu kibuga, n'alaga nnyazaala we bbaale gw'akuŋŋaanyizza, n'amuwa n'emmere eyali esigaddewo ng'amaze okukkuta. Nnyazaala we n'amubuuza nti: “Olonze wa olwaleero? Okoze wa? Mukama awe omukisa oyo akutaddeko omwoyo.” Awo Ruusi n'ategeeza nnyazaala we nti yali akoze mu nnimiro y'omusajja gwe bayita Bowaazi. Nawomi n'agamba mukaamwana we nti: “Mukama bulijjo atuukiriza by'asuubiza abalamu n'abafu, awe omusajja oyo omukisa.” N'ayongera nti: “Omusajja oyo waaluganda lwaffe ddala, omu ku abo abateekwa okutulabirira.” Ruusi Omumowaabu n'agamba nti: “N'ekirala, aŋŋambye nti nnondenga bbaale n'abakozi be, okutuusa amakungula okuggwaako.” Nawomi n'agamba Ruusi nti: “Kirungi mwana wange, okolerenga wamu n'abawala abakola mu nnimiro ya Bowaazi oyo, olemenga okutawaanyizibwa mu nnimiro y'omuntu omulala.” Awo Ruusi n'akolanga n'abo okulonda, okutuusa amakungula ga bbaale n'ag'eŋŋaano lwe gaggwa. Era n'ayongera okubeeranga ne nnyazaala we. Awo Nawomi, n'agamba mukaamwana we Ruusi nti: “Mwana wange, nnina okulaba ng'ofuna amaka, weetongole. Kale kaakano, nga bw'omanyi, tulina oluganda olw'okumpi ne Bowaazi, nnannyini bawala abaweereza b'obadde okola nabo. Kati nno wulira: olweggulo lwa leero, ajja okuwewa bbaale mu gguuliro. Kale naaba, weesiige ebyobuwoowo, oyambale ebyambalo byo ebisinga obulungi, olyoke oserengete ku gguuliro, naye tomumanyisa nti w'oli, okutuusa ng'amaze okulya n'okunywa. Wekkaanye ekifo w'anaagalamira. Bw'anaaba yeebase, ogende obikkule ku bigere bye, ogalamire awo. Olwo ye, anaakubuulira eky'okukola.” Ruusi n'addamu nti: “Byonna by'oyogedde nnaabikola.” Awo Ruusi n'aserengeta mu gguuliro, n'akola nga nnyazaala we bw'amugambye. Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, n'aba musanyufu, n'agenda okugalamirako ku mabbali g'entuumu ya bbaale, ne yeebaka otulo. Ruusi n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bya Bowaazi, n'agalamira. Ekiro mu ttumbi, Bowaazi n'awawamuka mu tulo ne yeekyusa, ne yeewuunya okusanga omukazi ng'agalamidde awo okumpi n'ebigere bye. N'abuuza nti: “Ggwe ani?” Omukazi n'addamu nti: “Nze Ruusi, omuweereza wo. Ggwe wooluganda ow'okumpi ateekwa okundabirira. N'olwekyo nkusaba ontwale, obeerenga omukuumi wange.” Bowaazi n'agamba nti: “Mukama akuwe omukisa mwana wange. Kino ky'okoze kaakano, kiragidde ddala obwesigwa bwo, n'okusinga ebyo bye wakolera nnyazaala wo. Kubanga wandisobodde okunoonyaayo abavubuka, abagagga oba abaavu. Kale kaakano, teweeraliikirira Ruusi, nja kukukolera kyonna ky'osaba, kubanga abantu bange bonna mu kibuga, bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza. Kya mazima nga ndi waaluganda ow'okumpi, ateekwa okukulabirira. Naye waliwo omusajja owooluganda olw'okumpi okusinga nze. Sula wano ekiro kino. Bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ng'anaakulabirira, oba nga taakulabirire. Bw'aba ng'anaakulabirira, kirungi. Bw'aba nga taakulabirire, ndayira Katonda omulamu nti nze neetegese okukulabirira. Kaakati sigala wano weebake okutuusa obudde okukya.” Ruusi ne yeebaka kumpi n'ebigere bya Bowaazi okutuusa obudde okukya. N'agolokoka nga tebunnalaba bulungi muntu kwetegereza munne, kubanga Bowaazi teyayagala bantu bamanye ng'omukazi ono azze mu gguuliro. Bowaazi n'amugamba nti: “Leeta ekyambalo kye weesuulidde, okyanjuluze.” Ruusi n'akyanjuluza. Bowaazi n'amuteerako kilo ng'amakumi abiri eza bbaale, n'azimutikka. Ruusi n'addayo mu kibuga. Bwe yatuuka eka, nnyazaala we n'amubuuza nti: “Bigenze bitya, mwana wange?” Ruusi n'amubuulira byonna, Bowaazi by'amukoledde. N'agamba nti: “Kilo zino ng'amakumi abiri eza bbaale, azimpadde ng'agamba nti: ‘Togenda eri nnyazaala wo ngalo nsa.’ ” Nawomi n'amugamba nti: “Kaakano, tuula osirike, mwana wange, okutuusa lw'onoomanya bino gye binakkira, kubanga omusajja ono tajja kuwummula olwa leero okutuusa ng'amaze okutereeza ensonga eyo.” Awo Bowaazi n'ayambuka mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Olwo owooluganda lwa Elimeleki asinga okuba ow'okumpi, Bowaazi gwe yali ayogeddeko, n'ayitawo. Bowaazi n'amuyita nti: “Owange, kyama, otuuleko wano.” Oli n'akyama, n'atuula. Awo Bowaazi n'afuna abasajja kkumi ku bakulembeze b'ekibuga, n'abasaba nabo batuuleko awo. Ne batuula. Awo n'agamba owooluganda lwe nti: “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi y'e Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Elimeleki. Era ndowoozezza nga nteekwa okukikutegeezaako nti oba oyagala, kigulire mu maaso ga bano abatudde wano. Naye bw'oba nga toyagala kukinunula, yogera mmanye, kubanga ggwe olina obuyinza obusooka obw'okukinunula, nze ne nkuddirira.” Oli n'agamba nti: “Nja kukinunula.” Bowaazi n'agamba nti: “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Ruusi, nnamwandu Omumowaabu, ekibanja kiryoke kisigale mu mikono gy'ab'omu nnyumba y'omufu.” Oli n'addamu nti: “Oba bwe guli, siyinza kukyenunulira, kubanga abaana abange tebalikisikira. Obuyinza mbulekedde ggwe, okinunule.” Edda mu Yisirayeli, eno ye yali empisa ey'okununula n'okuwaanyisa: okukakasa endagaano, omuntu yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne. Obwo bwe bwabanga obujulirwa mu Bayisirayeli. Awo owooluganda lwa Bowaazi bwe yamugamba nti: “Kyegulire”, n'anaanula engatto ye, n'agiwa Bowaazi. Bowaazi n'agamba abakulembeze, n'abalala bonna abaaliwo nti: “Muli bajulirwa olwaleero, nga nguze ku Nawomi byonna ebyali ebya Elimeleki ne batabani be, Kiliyooni ne Maaloni. Era Ruusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maaloni, mmuguze okuba mukazi wange, ebintu by'omufu oyo biryoke bisigale mu b'omu nnyumba ye, era ezzadde lye lireme kuzikirira mu baganda be ne mu kibuga kye. Mmwe bajulirwa leero.” Abakulembeze n'abalala bonna ne bagamba nti: “Ffe bajulirwa. Omukazi azze mu nnyumba yo, Mukama amufuule nga Raakeeli ne Leeya, bombi abaazaalira Yisirayeli abaana. Naawe okulaakulane mu nnyumba ya Efuraati, oyatiikirire mu Betilehemu. Ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuto, lifuule amaka go ng'aga Pereezi, Tamari gwe yazaalira Yuda.” Awo Bowaazi n'atwala Ruusi, ne bafumbiriganwa. Mukama n'awa Ruusi omukisa, n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Abakazi ne bagamba Nawomi nti: “Mukama yeebazibwe! Akuwadde omuzzukulu ow'obulenzi, anaakulabiriranga. Omulenzi ayatiikirire mu Yisirayeli! Mukaamwana wo akwagala, era akukoledde ebirungi ebingi okusinga ebyo abaana omusanvu ab'obulenzi bye bandikukoledde, kaakano akuzaalidde omuzzukulu ow'obulenzi, alikuzzaamu obulamu, n'akulabirira mu bukadde bwo.” Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amulera era n'amulabiriranga. Abakazi ab'omuliraano ne batuuma omwana erinnya Obedi. Ne bagamba nti: “Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi.” Obedi oyo ye kitaawe wa Yesse, Yesse kitaawe wa Dawudi. Lino lye zzadde lya Pereezi: Pereezi yazaala Hezirooni, Hezirooni n'azaala Raamu, Raamu n'azaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Naasoni, Naasoni n'azaala Salumooni, Salumooni n'azaala Bowaazi, Bowaazi n'azaala Obedi, Obedi n'azaala Yesse, Yesse n'azaala Dawudi. Waaliwo omusajja erinnya lye Elukaana, eyabeeranga mu kibuga Raamatayimuzofimu, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Yali mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Elihu, Elihu mutabani wa Tohu, Tohu mutabani wa Zufu Omwefurayimu. Elukaana yalina abakazi babiri: Hanna ne Penina. Penina yalina abaana, naye Hanna teyalina. Buli mwaka, Elukaana yavanga mu kibuga ky'ewaabwe n'agenda e Siilo, okusinza n'okuwaayo ebitambiro eri Mukama Nnannyinimagye. Batabani ba Eli bombi, Hofuni ne Finehaasi, be baali bakabona ba Mukama e Siilo. Olunaku Elukaana lwe yaweerangayo ekitambiro, yawanga mukazi we Penina n'abaana be abawala n'abalenzi, emigabo. Newaakubadde Elukaana yayagalanga nnyo Hanna, yamuwanga omugabo gumu gwokka, kubanga Mukama yali amufudde mugumba. Muggya we yakolanga ebyamusunguwazanga era ne bimunakuwaza nnyo, kubanga Mukama yali amufudde mugumba. Bwe kityo bwe kyabanga buli mwaka. Bwe baagendanga mu nnyumba ya Mukama, Penina yasunguwazanga Hanna. Hanna kyeyavanga akaaba amaziga, n'alemwanga n'okulya. Awo Elukaana bba n'amubuuzanga nti: “Hanna okaabiranga ki era lwaki tolya? Lwaki omutima gwo munakuwavu? Nze sikugasa kusinga baana kkumi ab'obulenzi?” Bwe baamala okulya n'okunywa e Siilo, Hanna n'asituka. Mu kiseera ekyo, Eli kabona yali atudde ku ntebe okumpi n'omulyango gw'Essinzizo lya Mukama. Hanna yali munakuwavu mu mwoyo. N'asaba Mukama, era n'akaaba nnyo amaziga. Ne yeeyama ng'agamba nti: “Ayi Mukama Nnannyinimagye bw'onontunuulira nze omuzaana wo, n'olaba okubonaabona kwe ndimu, n'onzijukira, era n'otanneerabira, n'ompa omwana ow'obulenzi, ndimukuwa ennaku zonna ez'obulamu bwe, era enviiri ze, teziimumwebwengako.” Awo bwe yeeyongera okusaba Mukama, Eli ne yekkaanya emimwa gye. Hanna yasabiranga mu mutima gwe, emimwa gye nga gyenyeenya, naye eddoboozi lye nga teriwulikika. Eli kyeyava alowooza nti omukazi atamidde. Awo Eli n'amugamba nti: “Olituusa wa okutamiiranga? Lekera awo okunywanga omwenge.” Hanna n'amuddamu nti: “Nedda, mukama wange, ndi mukazi anakuwadde mu mwoyo. Sinywedde mwenge, wadde ekitamiiza ekirala kyonna. Mbadde nnyanjulira Mukama, ennaku endi ku mwoyo. Tolowooza nti nze omuweereza wo ndi mukazi ataliimu nsa. Mu buyinike bwange obunsukkiridde, ne mu kunyiiga kwange, mwe nsinzidde okwogera okutuusa kaakano.” Awo Eli n'addamu nti: “Genda mirembe, Katonda wa Yisirayeli akuwe ky'omusabye.” Hanna n'agamba nti: “Weebale kunjagaliza mukisa, nze omuweereza wo.” Awo omukazi ne yeddirayo, n'alya, n'ataddamu kunakuwala. Awo enkeera mu makya Elukaana n'ab'omu nnyumba ye ne bazuukuka, ne basinza Mukama ne baddayo ewaabwe, ne batuuka mu nnyumba yaabwe e Raama. Elukaana ne yeegatta ne Hanna mukazi we, Mukama n'ajjukira Hanna. Hanna n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma erinnya Samweli, kubanga yagamba nti: “Namusaba Mukama.” Awo omusajja oyo Elukaana n'agenda nate n'ab'ennyumba ye okuwaayo eri Mukama ekitambiro ekya buli mwaka, era n'okutuukiriza kye yeeyama. Kyokka Hanna n'atagenda, kubanga yagamba bba nti: “Sijja kugendayo okutuusa ng'omwana avudde ku mabeere, ndyoke mmutwale mmwanjule mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.” Elukaana, bba, n'amugamba nti: “Kola ky'olaba nga kye kisinga obulungi, olinde okutuusa lw'olimuggya ku mabeere. Kyokka Mukama anyweze ekigambo kye.” Awo omukazi n'asigala, n'ayonsa omwana we okutuusa lwe yamuggya ku mabeere. Bwe yamuggya ku mabeere, n'amutwala wamu n'ente ssatu, n'ekisero kimu eky'obuwunga bw'eŋŋaano, n'ensawo y'eddiba ejjudde omwenge, n'amuleeta ng'akyali muto e Siilo, mu nnyumba ya Mukama. Awo ne batta ente, ne batwala omwana ewa Eli. Hanna n'agamba nti: “Ayi mukama wange, wangaala! Mukama wange, nze mukazi eyayimirira wano mu maaso go, nga nsaba Mukama. Ono ye mwana gwe nasaba Mukama era yawulira okusaba kwange, n'amumpa. Nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama.” N'asinziza eyo Mukama. Awo Hanna n'asinza Mukama ng'agamba nti: “Mukama ajjuzizza omutima gwange essanyu; anzizizzaamu amaanyi. Nsekerera abalabe bange, mbugaanye essanyu kubanga, ayi Katonda, omponyezza. “Tewali mutuukirivu nga Mukama, tewali mulala amufaanana; tewali ayinza kutukuuma okwenkana Katonda waffe. “Mulekere awo okwenyumiriza, mukomye okwogeza amalala; kubanga Mukama ye Katonda amanyi, era alamula byonna abantu bye bakola. “Emitego gy'abazira gimenyese, naye abanafu beeyongera maanyi. Abo abaalyanga ne bakkuta, kaakano bapakasa okufuna emmere, naye abaalumwanga enjala, tekyabaluma. Omukazi omugumba azadde musanvu, n'oyo eyazaala abangi tasigazizza n'omu. “Mukama aggyawo obulamu n'abuzzaawo; aserengesa emagombe, n'azuukiza. “Mukama ayavuwaza, era agaggawaza. Atoowaza, era ye agulumiza. “Abaavu abayimusa n'abaggya mu nfuufu; abali mu bwetaavu, abaggya ku ntuumu y'ebisasiro, n'abatuuza wamu n'abalangira, n'abateeka mu bifo ebyekitiibwa, kubanga empagi z'ensi za Mukama, era ku mpagi ezo, kwe yateeka ensi kwe tuli. “Aluŋŋamya ebigere by'abamukkiriza; naye ababi babulira mu kizikiza, kubanga omuntu tawangula lwa maanyi ge. Abalabe ba Mukama bamenyebwamenyebwa; ababwatukira ng'asinziira mu ggulu. Mukama alamula ensi yonna. Awa amaanyi, oyo gwe yalonda okuba kabaka. Agulumiza oyo gwe yasiigako omuzigo.” Awo Elukaana n'addayo ewuwe e Raama. Omwana n'asigala ng'aweereza Mukama, ng'alabirirwa Eli. Batabani ba Eli baali bantu abataliimu nsa. Tebassangayo mwoyo ku Mukama. Era engeri bakabona abo gye baayisangamu abantu, yali bw'eti: omuntu bwe yawangayo ekitambiro, omuweereza wa kabona ng'ajja nga bakyafumba ennyama, ng'akutte ffooka ey'amannyo asatu, n'afumita mu nsaka oba entamu oba seffuliya. Awo byonna ekyuma ekyo bye kyaleetanga, kabona ng'abitwala. Bwe batyo bwe baayisanga buli Muyisirayeli eyajjanga e Siilo okuwaayo ebitambiro. Era bwe baabanga tebannaba kwokya masavu, omuweereza wa kabona ng'ajja n'agamba omusajja awaayo ekitambiro nti: “Mpa ennyama ey'okwokera kabona, kubanga tajja kukkiriza nnyama nfumbe gye munaamuwa, wabula embisi.” Omusajja bwe yamuddangamu nti: “Ka basooke bookye amasavu, olyoke otwale ennyama gy'oyagala.” Awo ng'omuweereza amuddamu nti: “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bw'ogaana nja kugitwala lwa mpaka.” Ekibi ky'abalenzi abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga abantu baatamwa ekiweebwayo eri Mukama. Awo Samweli n'atandika ng'akyali mwana muto okuweerezanga mu maaso ga Mukama, ng'ayambadde ekkanzu enjeru. Buli mwaka nnyina n'amutungiranga akanagiro n'akamutwalira, bwe yagendanga awamu ne bba, okuwaayo ekitambiro ekya buli mwaka. Eli n'asabiranga Elukaana ne mukazi we ng'agamba nti: “Mukama akwongere abaana mu mukazi ono, olw'oyo gwe yatonera Mukama.” Ebyo olwaggwanga ne baddayo ewaabwe. Awo Mukama n'awa Hanna omukisa, n'azaala abaana ab'obulenzi basatu, n'ab'obuwala babiri. Omwana Samweli n'akulira mu maaso ga Mukama. Awo Eli yali akaddiye nnyo. N'awuliranga ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayeli bonna, n'engeri gye beebakanga n'abakazi abaaweerezanga ku mulyango gwa weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. N'abagamba nti: “Lwaki mukola ebifaanana bwe bityo? Abantu bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi. Nedda, baana bange. Ebigambo bye mpulira, si birungi. Abantu ba Mukama mubaleetera okukola ekibi. Omuntu bw'asobya ku muntu munne, Katonda ye abasalirawo. Naye omuntu bw'asobya ku Mukama, ani alimuwolereza?” Naye tebaawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga Mukama yali asazeewo okubatta. Omwana Samweli ne yeeyongera okukula n'okuganja ewa Katonda ne mu bantu. Awo omusajja wa Katonda n'ajja ewa Eli, n'amugamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Nneeyoleka ab'ennyumba ya jjajjaawo bwe baali nga baddu ba kabaka w'e Misiri. Era jjajjaawo oyo namuggya mu b'ebika byonna ebya Yisirayeli, ne mmulonda okuba kabona wange okwambukanga ku alutaari yange, n'okunyookezanga obubaane, n'okwambalanga ekkanzu mu maaso gange. Era ne mpa ab'ennyumba ya jjajjaawo omugabo ku biweebwayo byonna Abayisirayeli bye bawaayo ebyokebwa. Lwaki temussaamu kitiibwa ebitambiro byange n'ebiweebwayo gye ndi, bye nalagira mu nnyumba yange, naawe n'ossaamu batabani bo ekitiibwa okusinga nze, ne mugejjera ku bisinga obulungi, mu ebyo byonna abantu bange Abayisirayeli bye bawaayo?’ Mukama Katonda wa Yisirayeli kyava agamba nti: ‘Weewaawo nasuubiza nti ab'ennyumba yo, n'ab'ennyumba ya jjajjaawo, banampeerezanga ebbanga lyonna. Naye kaakano nze Mukama ŋŋamba nti ekyo kikafuuwe, kubanga abanzisaamu ekitiibwa, be nnassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma, tebassibwengamu kaabuntu. Laba ennaku zijja, lwe ndizikiriza abavubuka bonna ab'omu nnyumba yo, ne mu nnyumba ya jjajjaawo, walemenga kubaawo akula n'akaddiwa mu nnyumba yo.’ “Olwo olitunuulira n'obuggya ebirungi bye ndikolera Yisirayeli, naye tewaliba akula n'akaddiwa mu nnyumba yo, ennaku zonna. Naye omuntu ow'omu nnyumba yo, gwe ndirekawo okuweerezanga ku alutaari yange, alisigalawo kukukaabya maziga agakuziba amaaso, na kunakuwaza mwoyo gwo. N'abaana bonna ab'ennyumba yo, banaafanga nga bavubuse. Kino ekirituuka ku batabani bo Hofuni ne Finehaasi, ke kabonero kw'olitegeerera nti byonna bye njogedde birituukirira. Bombi balifa ku lunaku lumu. Ndyerondera kabona omwesigwa anaakolanga bye njagala, era ebinsanyusa. Ndimuwa ezzadde ne ndinyweza, liweerezenga ennaku zonna oyo gwe ndisiigako omuzigo. Era ekiseera kirituuka, buli aliba asigaddewo ku b'omu nnyumba yo, n'ajja n'avuunamira kabona oyo okumusabayo ku ssente n'emmere, ng'amugamba nti: ‘Nkwegayiridde, mpa nkole ogumu ku mirimu gya bakabona, nsobole okufuna kye ndya.’ ” Awo omwana Samweli n'aweerezanga Mukama ng'alabirirwa Eli. Mu nnaku ezo, Mukama yali tatera kwogera na bantu wadde okubalabikira. Awo olwatuuka, mu kiro ekimu, Eli eyali takyalaba bulungi olw'amaaso ge agaali gatandise okuyimbaala, yali agalamidde mu kifo kye, ng'ettaala ya Mukama tennazikira. Ne Samweli yali yeebase mu Ssinzizo lya Mukama, omwali Essanduuko ya Katonda. Awo Mukama n'ayita Samweli. Samweli n'ayitaba nti: “Wangi ssebo.” Awo n'adduka n'agenda awali Eli, n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Eli n'agamba nti: “Sikuyise, ddayo weebake.” Samweli n'addayo ne yeebaka. Mukama n'addamu okuyita Samweli. Samweli n'agolokoka n'agenda awali Eli n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Kyokka Eli n'addamu nti: “Mwana wange, sikuyise.” Samweli yali tannaba kumanya Mukama, era Mukama yali tayogerangako na Samweli. Mukama n'ayita Samweli omulundi ogwokusatu. Samweli n'agolokoka n'agenda awali Eli n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Awo Eli n'ategeera nti Mukama ye ayita omwana. Eli kyeyava agamba Samweli nti: “Genda weebake. Bw'anaakuyita, onoogamba nti: ‘Yogera Mukama wange, omuddu wo awulira.’ ” Awo Samweli n'addayo ne yeebaka mu kifo kye. Awo Mukama n'ajja n'ayimirira awo, n'ayita nga mu kusooka nti: “Samweli, Samweli!” Samweli n'addamu nti: “Yogera, omuddu wo awulira.” Mukama n'agamba Samweli nti: “Ŋŋenda okukola ekintu mu Yisirayeli, ekiriwaawaaza amatu ga buli muntu alikiwulira. Ku lunaku olwo ndituukiriza byonna bye nayogera ku b'ennyumba ya Eli, okuva ku kisooka okutuuka ku kisembayo, kubanga nabuulira Eli nti ŋŋenda kuwa ab'ennyumba ye ekibonerezo ekyolubeerera olw'ekibi kye yamanya, olwa batabani be abeeyonoona n'atabaziyiza. Kyenvudde ndayirira ab'ennyumba ya Eli nti emirembe gyonna, ekibi kyabwe tekigenda kuggyibwawo na kiweebwayo wadde ekitambiro.” Samweli ne yeebaka okutuusa enkeera. Bwe yazuukuka n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama. N'atya okubuulira Eli ebyo bye yayolesebwa. Awo Eli n'ayita Samweli n'amugamba nti: “Samweli, mwana wange!” Samweli n'ayitaba nti: “Wangi ssebo.” Eli n'amubuuza nti: “Kiki Mukama kye yakugambye? Nkwegayiridde tokinkisa. Katonda akubonereze n'obukambwe bw'onoobaako ky'onkisa ku ebyo byonna by'akugambye.” Awo Samweli n'amubuulira byonna, n'atabaako ky'amukisa. Eli n'agamba nti: “Ye Mukama, akole nga bw'asiima.” Samweli n'akula, era Mukama n'aba wamu naye. Mukama n'ataganya kigambo kya Samweli na kimu kugwa butaka. Awo Abayisirayeli bonna, okuva e Daani okutuuka e Beruseba, ne bamanya nti Samweli akakasiddwa okuba omulanzi wa Mukama. Mukama n'ayongera okulabikira mu Siilo, gye yeeragira Samweli, era n'ayogera naye. Era Samweli buli kye yayogeranga, ng'Abayisirayeli bonna bakiwuliriza. Awo Abayisirayeli ne bagenda okulwana n'Abafilistiya. Ne basiisira okumpi ne Ebenezeri; Abafilistiya ne basiisira mu Afeki. Abafilistiya ne beetereeza ne balumba Abayisirayeli. Olutalo bwe lwanyinnyittira, Abafilistiya ne bawangula Abayisirayeli, ne babattamu abantu ng'enkumi nnya mu ddwaniro. Abayisirayeli bwe baatuuka mu lusiisira, abakulu baabwe ne beebuuza nti: “Lwaki olwaleero Mukama akkirizza Abafilistiya okutuwangula? Tugende e Siilo tuggyeyo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, tugireete we tuli ebeere wamu naffe, etuwonye abalabe baffe.” Awo ne batuma ababaka e Siilo ne baggyayo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama Nnannyinimagye, atuula ku bakerubi. Ne batabani ba Eli bombi Hofuni ne Finehaasi bajja n'abaaleeta Essanduuko y'Endagaano ya Katonda. Awo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abayisirayeli bonna ne baleekaana nnyo, n'ensi n'ekankana. Abafilistiya bwe baawulira okuleekaana okwenkanidde awo, ne beebuuza nti: “Okuleekaana ennyo okwenkanidde awo mu lusiisira lw'Abeebureeyi, kutegeeza ki?” Ne bategeera ng'Essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira. Awo Abafilistiya ne batya, ne bagamba nti: “Lubaale azze mu lusiisira! Zitusanze ffe, kubanga ekiri ng'ekyo tekibangawo. Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale abo ab'amaanyi? Abo be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebya buli ngeri. Mmwe Abafilistiya, muddeemu amaanyi, mulwane masajja, muleme kuba baddu b'Abeebureeyi, nga bo bwe baali abaddu bammwe, Mugume mulwane masajja!” Abafilistiya ne balwana, ne bawangula Abayisirayeli. Abayisirayeli ne badduka buli omu n'addayo mu maka ge. Abantu bangi ne battibwa. Abayisirayeli ne bafaamu abaserikale emitwalo esatu ab'ebigere. Essanduuko ya Mukama n'enyagibwa, ne batabani ba Eli bombi Hofuni ne Finehaasi ne battibwa. Awo omusajja ow'omu Kika kya Benyamiini, n'ava mu ddwaniro, n'adduka okutuuka e Siilo ku lunaku olwo, ng'ayuzizza ebyambalo bye, era ng'asiize ettaka mu mutwe gwe okulaga okunakuwala. Okutuuka, yasanga Eli atudde mu ntebe ye, okumpi n'ekkubo, nga yeekaliriza amaaso era nga yeeraliikirira olw'Essanduuko ya Katonda. Awo omusajja oyo bwe yatuuka mu kibuga, n'awa abaamu amawulire, abantu bonna ne baleekaana. Eli bwe yawulira okuleekaana n'abuuza nti: “Oluyoogaano olwo lwaki?” Awo omusajja n'ayanguwa n'ajja n'amubuulira. Eli yali awezezza emyaka kyenda mu munaana, n'amaaso ge gaali gayimbadde, nga takyayinza kulaba. Omusajja n'agamba Eli nti: “Nze nvudde mu ddwaniro, era nziruseeyo lwaleero.” Eli n'amubuuza nti: “Mwana wange, byagenze bitya?” Eyaleeta amawulire n'amuddamu nti: “Abayisirayeli badduse Abafilistiya, era abantu bangi nnyo abattiddwa. Ne batabani bo bombi Hofuni ne Finehaasi, battiddwa era n'Essanduuko ya Katonda enyagiddwa.” Awo bwe yayogera ku Ssanduuko ya Katonda, Eli n'awanuka ku ntebe, n'agwa bugazi okumpi n'omulyango. Nga bwe yali mukadde era nga munene, bwe yagwa yamenyeka ensingo, n'afa. Yali alamulidde Yisirayeli emyaka amakumi ana. Awo mukaamwana wa Eli, muka Finehaasi, yali lubuto lukulu ng'anaatera okuzaala. Bwe yawulira nti Essanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'ajjirwa okulumwa okuzaala n'afukamira n'azaala. Bwe yali ng'anaatera okufa, abakyala abaali bamulabirira ne bamugamba nti: “Totya, kubanga ozadde omwana wa bulenzi.” Kyokka ye teyabaddamu era teyafaayo. Omwana n'amutuuma erinnya, Yikabodi ng'agamba nti: “Yisirayeli aggyiddwako ekitiibwa,” kubanga Essanduuko ya Katonda yali enyagiddwa, era ssezaala we ne bba nga bafudde. Awo n'agamba nti: “Yisirayeli aggyiddwako ekitiibwa, kubanga Essanduuko ya Katonda enyagiddwa.” Abafilistiya bwe baanyaga Essanduuko ya Katonda, ne bagiggya mu Ebenezeri, ne bagitwala e Asudoodi. Ne bagitwala ne bagiteeka mu ssabo lya lubaale waabwe Dagoni, ne bagiteeka ku mabbali ge. Abasudoodi bwe baagolokoka enkeera ku makya, baasanga Dagoni agudde, nga yeevuunise mu maaso g'Essanduuko ya Mukama. Dagoni ne bamusitula ne bamuzza mu kifo kye. Ate bwe baagolokoka mu makya g'olunaku olwaddirira, era ne basanga Dagoni ng'agudde, era nga yeevuunise mu maaso g'Essanduuko ya Mukama, omutwe n'emikono nga bikutuseeko, nga bigudde mu mulyango, Dagoni ng'asigadde kiwuduwudu. Bakabona ba Dagoni, ne bonna abayingira mu ssabo lye, kyebava balema okulinnya ku mulyango gwe mu Asudoodi, n'okutuusa kati. Awo Mukama n'abonereza nnyo abantu b'omu Asudoodi n'ebitundu ebikyetoolodde, n'abaleetera entiisa, n'abalwaza ebizimba. Abasudoodi bwe baalaba ebibatuuseeko, ne bagamba nti: “Essanduuko ya Katonda w'Abayisirayeli tetujja kusigala nayo, kubanga Katonda waabwe atubonerezza nnyo ffe ne lubaale waffe Dagoni.” Kyebaava batuma ababaka ne bayita abaami b'Abafilistiya bonna, ne bababuuza nti: “Tukole tutya Essanduuko ya Katonda w'Abayisirayeli?” Ne baddamu nti: “Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli ewereekerezebwe okutuuka e Gaati.” Awo ne bawereekereza Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli. Awo olwatuuka bwe baagituusaayo, Mukama n'abonereza n'ab'omu kibuga ekyo, n'abaleetera entiisa ey'amaanyi era n'abalwaza ebizimba, ebyafuutuuka ku bonna, abato n'abakulu. Awo Essanduuko ya Katonda ne bagiweereza mu Ekurooni. Bwe baagituusa eyo, ab'omu Ekurooni ne baleekaana nti: “Batuleetedde Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli okututta ffenna!” Ne batumira abaami bonna ab'Abafilistiya ne bakuŋŋaana. Ne babagamba nti: “Muzzeeyo Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli gy'ebeera, ereme kututta kutumalawo.” Waaliwo entiisa ey'okufa mu kibuga kyonna, kubanga Katonda yali ababonerezza nnyo. N'abo abataafa, ne balwala ebizimba, okukaaba kw'ab'omu kibuga ekyo ne kutuuka mu ggulu. Essanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu ng'eri mu nsi eya Bafilistiya. Awo Abafilistiya ne bayita bakabona n'abalaguzi ne bababuuza nti: “Tukole tutya Essanduuko ya Mukama? Mututegeeze kye tunaagiweererezaako, bwe tunaaba tugiweerezaayo gy'ebeera.” Ne babaddamu nti: “Bwe munaaba muweerezaayo Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli, temujja kugiweerezaayo yokka. Mujja kumuweererezaako ekiweebwayo olw'omusango, lwe munaawona, era ne mutegeera ensonga Mukama kw'abadde asinziira okubabonereza.” Abafilistiya ne babuuza nti: “Ekiweebwayo olw'omusango kye tunaamuweereza, kinaaba kiki?” Ne baddamu nti: “Ebibumbe ebya zaabu bitaano ebibumbiddwa ng'ebizimba, n'ebibumbe ebya zaabu ebirala bitaano ebibumbiddwa ng'emmese, ng'omuwendo gwa buli kika kya bibumbe gwenkana n'omuwendo gw'abaami b'Abafilistiya, kubanga ekibonerezo kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe. Mukole ebibumbe ebifaanana ebizimba byammwe, n'ebifaanana emmese ezaayonoona ensi yammwe. Era muwe Katonda wa Yisirayeli ekitiibwa, osanga alibaddiramu mmwe ne balubaale bammwe era n'ensi yammwe. Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe ng'Abamisiri ne kabaka waabwe bwe baakakanyaza emitima gyabwe? Bwe yamala okubabonereza, tebaaleka abantu bagende, era ne bagenda? Kale kaakano muddire ekigaali ekipya, mukiteeketeeke, mukisibeko ente bbiri ezikamibwa, ezitasibwangako kikoligo. Ennyana zaazo muziziggyeeko, muzizzeeyo eka. Muddire Essanduuko ya Mukama mugiteeke ku kigaali ekyo. Ebibumbe ebya zaabu bye muweereza, nga bye biweebwayo olw'omusango, mubiteeke mu ssanduuko endala, mugiriraanye Ssanduuko ya Mukama. Awo mugisindike egende. Mutunule, bw'eneeyambukira mu kkubo eriraga e Betisemesi mu nsi yaayo, olwo kinaategeerekeka nti Katonda w'Abayisirayeli ye yatubonereza. Naye bwe kitaabe bwe kityo, nga tutegeera nti ebibonerezo ebyatutuukako, byatugwira bugwizi.” Abasajja ne bakola bwe batyo. Ne baddira ente bbiri ezikamibwa ne bazisiba ku kigaali, ennyana zaazo ne baziggalira eka. Ne bateeka Ssanduuko ya Mukama ku kigaali, n'essanduuko erimu ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ebizimba, n'ebifaanana emmese. Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu erigenda e Betisemesi ne zitambula mu kkubo nga zigenda ziŋooŋa, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. Abaami b'Abafilistiya ne bazigoberera, okutuuka ku nsalo ey'e Betisemesi. Awo ab'e Betisemesi baali mu kiwonvu, nga bakungula eŋŋaano yaabwe. Bwe babbulula amaaso, ne balaba Essanduuko y'Endagaano, ne basanyuka okugiraba. Ekigaali ne kijja mu musiri gwa Yoswa ow'e Betisemesi, ne kiyimirira awali ejjinja eddene. Abantu ne baasa emiti gy'ekigaali, ne bawaayo ente ezo, ne ziba ekitambiro ekyokebwa eri Mukama. Abaleevi ne basitula Essanduuko ya Mukama, n'essanduuko eyali nayo, omwali ebibumbe ebya zaabu, ne baziteeka ku jjinja eryo eddene. Awo Ababetisemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne batambira n'ebitambiro ebirala eri Mukama ku lunaku olwo. Abaami b'Abafilistiya abataano, bwe baakiraba, ne baddayo mu Ekurooni ku lunaku olwo. Bino bye bibumbe ebya zaabu, ebyakolebwa ng'ebizimba, Abafilistiya bye baaweereza Mukama okuba ebiweebwayo olw'omusango: ekimu olwa Asudoodi, ekimu olwa Gaaza, n'ekimu olwa Asukelooni, ekirala olwa Gaati n'ekirala olwa Ekurooni. Era ne baweereza n'ebibumbe ebya zaabu, ebyakolebwa ng'emmese, ebyenkana obungi bw'ebibuga byonna ebyafugibwanga abaami b'Abafilistiya abataano, ebyali byetooloddwa ebigo, n'ebyalo ebitaaliko bigo. Ejjinja eddene kwe baateeka Ssanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa ow'e Betisemesi, likyaliwo ne leero okukakasa ebyo ebyaliwo. Awo Mukama n'atta ab'e Betisemesi nsavu, kubanga baatunula munda w'Essanduuko ye. Abantu ne banakuwala kubanga Mukama yabattamu abantu bangi nnyo. Awo ab'e Betisemesi ne bagamba nti: “Ani asobola okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono Omutuukirivu? Era anaagenda w'ani ng'atuvuddeko?” Ne batumira ab'e Kiriyati Yeyariimu ababaka babagambe nti: “Abafilistiya bakomezzaawo Ssanduuko ya Mukama. Mujje mmwe mugiddukire.” Awo abantu b'e Kiriyati Yeyariimu ne banona Essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadabu, eyali ku kasozi. Ne baawula mutabani we Eleyazaari okugikuumanga. Ssanduuko ya Mukama, n'ebeera mu Kiriyati Yeyariimu, okumala ekiseera kiwanvu: gyali emyaka amakumi abiri. Ekiseera ekyo, Abayisirayeli bonna ne bakimala nga bakaabirira Mukama abayambe. Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mukyuke mudde eri Mukama n'emitima gyammwe gyonna. Muggyewo balubaale bonna, n'ebifaananyi bya lubaale omukazi Asitarooti. Mweweereyo ddala eri Mukama, era gwe muba muweereza yekka, alibawonya Abafilistiya.” Awo Abayisirayeli ne baggyawo ebifaananyi bya balubaale, Baali ne Asitarooti, ne baweereza Mukama yekka. Awo Samweli n'agamba nti: “Mukuŋŋaanye Abayisirayeli bonna, bajje e Mizupa, mbasabire eri Mukama.” Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi era ne bagayiwa ku ttaka, nga go kye kiweebwayo eri Mukama. Ne basiiba ku lunaku olwo. Ne bagamba nti: “Twakola ekibi eri Mukama.” Eyo e Mizupa Samweli gye yalamulira Abayisirayeli. Abafilistiya bwe baawulira nti Abayisirayeli bakuŋŋaanidde e Mizupa, abakulembeze b'Abafilistiya ne bajja okulumba Abayisirayeli. Abayisirayeli bwe baakiwulira ne batya Abafilistiya. Ne bagamba Samweli nti: “Nyiikirira okwegayirira Mukama Katonda waffe, atuwonye obulumbaganyi bw'Abafilistiya.” Awo Samweli n'addira endiga ento ekyayonka, n'agiwaayo, nga kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. N'akaabirira Mukama ng'amusaba ayambe Abayisirayeli, era Mukama n'amuwa ky'amusaba. Samweli bwe yali awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafilistiya ne basemberera Abayisirayeli babalwanyise. Naye Mukama n'abwatukira Abafilistiya n'eddoboozi ery'amaanyi ku lunaku olwo. Abafilistiya ne babutaabutana olw'okutya, era ne badduka Abayisirayeli. Abayisirayeli ne bava e Mizupa, ne bawondera Abafilistiya, okutuuka e Betikari, nga bagenda babatta. Awo Samweli n'addira ejjinja, n'alisimba wakati wa Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya Ebenezeri ng'agamba nti: “Mukama atuyambye, okutuusa kaakano.” Bwe batyo Abafilistiya ne bawangulwa, era Mukama n'atabaganya kulumba nsi ya Bayisirayeli ebbanga lyonna, Samweli lye yamala nga mulamu. Ebibuga byonna Abafilistiya bye baali bawambye ku Bayisirayeli, ebiri wakati wa Ekurooni ne Gaati, ne bibaddira. Bwe batyo Abayisirayeli ne beddiza ebitundu byabwe byonna, okuva ku Bafilistiya. Era ne wabaawo emirembe wakati w'Abayisirayeli n'Abaamori. Samweli n'alamula Yisirayeli ennaku zonna ez'obulamu bwe. Buli mwaka yagendanga e Beteli n'e Gilugaali n'e Mizupa n'alamuliranga emisango gy'Abayisirayeli mu bifo ebyo. N'addangayo e Raama, kubanga amaka ge gye gaabeeranga. N'alamuliranga eyo Yisirayeli, era n'azimbayo alutaari ya Mukama. Awo Samweli bwe yakaddiwa, n'afuula batabani be abalamuzi ba Yisirayeli. Erinnya lya mutabani we omukulu nga ye Yoweeli, n'owookubiri nga ye Abiya. Baali balamuzi mu Beruseba. Naye batabani ba Samweli ne batagoberera kyakulabirako kya kitaabwe, ne beemaliranga mu kufuna nsimbi na kulya nguzi, n'emisango ne batagisalanga mu bwenkanya. Abakulembeze ba Yisirayeli bonna ne bakuŋŋaana, ne bagenda eri Samweli e Raama. Ne bamugamba nti: “Okaddiye, ne batabani bo tebakyagoberera bikolwa byo. Kale tulondere kabaka, tufugibwe ng'amawanga amalala.” Eky'okugamba nti: “Tuwe kabaka atulamulenga,” ne kinyiiza Samweli. Samweli n'akyebuuza ku Mukama. Mukama n'agamba Samweli nti: “Wuliriza ebyo byonna abantu bye bakugamba, kubanga tebagaanye ggwe, wabula bagaanye nze okuba kabaka waabwe. Okusinziira ku kye babadde bakola okuva lwe nabaggya e Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero, nga banvaako ne baweereza balubaale, naawe kye bakukola. Kale nno kaakano bawulirize, naye obannyonnyolere ddala engeri kabaka alibafuga gy'alibayisaamu.” Awo Samweli n'abuulira abaamusaba kabaka, ebyo byonna Mukama by'amugambye. N'abannyonnyola nti: “Eno ye ngeri kabaka wammwe gy'alibayisaamu: batabani bammwe alibayingiza mu magye ge, abamu ne bakola mu magaali ge, abalala ne beebagala embalaasi ze, n'abalala nga ba bigere, abakulemberamu amagaali ge. Abamu alibalonda okuba abaduumizi b'ebibinja by'abaserikale olukumi lukumi, n'abalala okuduumira ebibinja by'abaserikale amakumi ataano ataano. Era abamu balirima ennimiro ze, ne bakungula ebirime bye, abalala ne baweesa ebyokulwanyisa, n'ebikozesebwa ku magaali ge. Kabaka alitwala bawala bammwe okumukoleranga ebyobuwoowo, n'okumufumbiranga emmere n'emigaati. Alitwala ennimiro zammwe ez'emizabbibu n'ez'emizayiti ezisinga obulungi, n'aziwa abaweereza be. Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'emmere yammwe ey'empeke, n'eky'ebibala byammwe eby'emizabbibu, n'abigabira abaami be n'abaweereza be. Alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'abavubuka bammwe abasinga obulungi, n'endogoyi zammwe, okukola emirimu gye. Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'amagana gammwe, era nammwe mwennyini muliba abaddu be. Mu nnaku ezo mulikaaba olwa kabaka wammwe, mmwe mwennyini gwe muliba mwerondedde, naye olwo Mukama talibaddiramu.” Naye abantu ne bagaana okuwuliriza ebya Samweli, ne bagamba nti: “Nedda! Ffe twagala kabaka anaatufuganga, naffe tube ng'amawanga amalala, kabaka atufugenga, era atukulemberenga mu ntabaalo zaffe, era alwanenga entalo zaffe.” Samweli n'awuliriza byonna abantu bye baayogera, n'agenda abibuulira Mukama. Mukama n'addamu nti: “Kola kye baagala, obateerewo kabaka.” Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli nti: “Buli omu addeyo mu kibuga ky'ewaabwe.” Waaliwo omusajja ow'amaanyi era omuzira ow'omu kitundu kya Benyamiini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeli, Abiyeeli mutabani wa Zerori, Zerori mutabani wa Bekorati, Bekorati mutabani wa Afiya Omubenyamiini. Kiisi yalina mutabani we, erinnya lye Sawulo, nga musajja mulungi nnyo mu ndabika ye, era nga muvubuka. Mu ndabika, tewaali amusinga bulungi mu Bayisirayeli bonna. Okuva ku bibegabega bye okudda waggulu, yali asinga abantu bonna obuwanvu. Awo ezimu ku ndogoyi za Kiisi kitaawe wa Sawulo, zaali zibuze. Kiisi n'agamba mutabani we Sawulo nti: “Twala omu ku baweereza, munoonye endogoyi.” N'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, n'ayita ne mu kitundu kya Salisa, naye ne bataziraba. Awo ne bayita mu nsi y'e Saalimu, nga teziriiyo. N'ayita mu nsi ey'Ababenyamiini, naye ne bataziraba. Bwe baatuuka mu kitundu ky'e Zufu, Sawulo n'agamba omuweereza we eyali naye nti: “Tuddeyo eka, sikulwa nga kitange aleka okulowooza ku ndogoyi, n'atandika okweraliikirira ffe.” Omuweereza n'amuddamu nti: “Lindako! Mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda assibwamu ekitiibwa, nga buli ky'ayogera kituukirira. Leka tugende gy'ali, oboolyawo ayinza okutubuulira, eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.” Sawulo n'abuuza omuweereza we nti: “Bwe tunaagenda gy'ali, tunaamutwalira kirabo ki? Ensawo zaffe ziweddemu emmere, ate tetulina kintu kirala kyonna kya kumuwa. Tulinawo ki?” Omuweereza era n'addamu nti: “Nnina akasente aka ffeeza, nnyinza okukamuwa, atubuulire gye tuyinza okusanga endogoyi.” (Edda mu Yisirayeli omuntu bwe yagendanga okwebuuza ewa Katonda, ng'agamba nti: “Jjangu tugende ew'omulabi.” Kubanga mu kiseera ekyo omulanzi baamuyitanga mulabi.) Sawulo n'addamu omuweereza we nti: “Oyogedde bulungi, kale tugende.” Awo ne bagenda mu kibuga awaabeeranga omusajja wa Katonda. Bwe baali balinnyalinnya akasozi batuuke mu kibuga, ne basisinkana abawala abaali bava mu kibuga, nga bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti: “Omulabi gy'ali?” Abawala ne babaddamu nti: “Gy'ali, era wuuyo abakulembeddemu. Mwanguwe, yaakatuuka mu kibuga, kubanga olwaleero, abantu bagenda kuwaayo kitambiro mu kifo ekigulumivu. Amangu ddala nga mwakayingira ekibuga mujja kumulaba nga tannayambuka mu kifo ekigulumivu okulya. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga ye asabira ekitambiro omukisa, olwo abantu abayitiddwa ne balyoka balya. Kale kaakano mwambuke, mujja kumulaba.” Awo Sawulo n'omuweereza we ne bagenda mu kibuga. Bwe baali nga bakiyingiramu, ne balaba Samweli ng'afuluma ng'ajja gye bali, bwe yali ng'agenda mu kifo ekigulumivu. Ng'ekyabulayo olunaku lumu Sawulo okujja, Mukama yali abikkulidde Samweli ekyama ng'agamba nti: “Enkya mu kiseera nga kino, nja kuweereza gy'oli omusajja okuva mu kitundu kya Benyamiini. Onoomufukako omuzigo, abe omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli, era ye alibaggya mu mikono gy'Abafilistiya, kubanga ndabye okubonaabona kw'abantu bange, era okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.” Samweli bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti: “Oyo ye musajja gwe nakugambyeko. Oyo ye alifuga abantu bange.” Awo Sawulo n'asemberera Samweli mu mulyango, n'agamba nti: “Nkwegayiridde mbuulira ennyumba y'omulabi w'eri.” Samweli n'agamba Sawulo nti: “Nze mulabi. Nkulemberaamu tugende mu kifo ekigulumivu, kubanga mujja kulya nange olwaleero. Enkya ku makya nnaakubuulira ebyo byonna ebiri mu mutima gwo, ndyoke mbasiibule mugende. N'endogoyi zo, ezimaze ennaku essatu nga zibuze tozeeraliikirira, kubanga zirabise. Naye Abayisirayeli bonna bayaayaanira ani? Si ggwe, n'ab'omu nnyumba ya kitaawo yonna?” Sawulo n'addamu nti: “Ndi wa mu kika kya Benyamiini, ekika ekisingirayo ddala obutono mu Yisirayeli, n'ennyumba yaffe ye esembayo okumanyika mu Kika kya Benyamiini, kale kiki ekikuŋŋambisa bw'otyo?” Awo Samweli n'atwala Sawulo n'omuweereza we, n'abayingiza mu kisenge ekinene, n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo, awamu n'abagenyi abayite, abaali bakunukkiriza mu makumi asatu. Samweli n'agamba omufumbi nti: “Leeta ennyama gye nakuwadde era gye nakugambye nti: ‘Gitereke.’ ” Awo omufumbi n'aleeta ekisambi n'ebyakiriko, n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samweli n'agamba Sawulo nti: “Eno ye nnyama gye nakuterekedde. Girye, kubanga nagiggyeeko ne ngikuterekera, okuviira ddala mu kaseera ke nagambiddeko nti: ‘Mpise abagenyi.’ ” Bw'atyo Sawulo n'aliira wamu ne Samweli ku lunaku olwo. Bwe baaserengeta mu kibuga okuva mu kifo ekigulumivu, Samweli n'ateesa ne Sawulo, waggulu ku nnyumba. Ne bazuukuka mu makya. Awo olwatuuka, obudde nga bukya, Samweli n'ayita Sawulo waggulu ku nnyumba, ng'agamba nti: “Golokoka, nkusiibule ogende.” Awo Sawulo n'agolokoka, ne bafuluma bombi, ye ne Samweli. Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samweli n'agamba Sawulo nti: “Gamba omuweereza ayitewo, atukulemberemu. Bw'anaamala okuyitawo, ggwe oyimirireko wano katono, nkumanyise ekigambo kya Katonda.” Awo Samweli n'addira akacupa k'omuzigo, n'agufuka ku mutwe gwa Sawulo, n'amunywegera, n'agamba nti: “Mukama takufuseeko omuzigo okuba omukulembeze w'abantu be Abayisirayeli? Olwaleero bw'onoova we ndi, ojja kusanga abasajja babiri, nga bali kumpi n'amalaalo ga Raakeeli e Zeluza, mu kitundu kya Benyamiini. Bajja kukubuulira nti endogoyi z'onoonya zirabise, era nti kati kitaawo aleseeyo okulowooza ku ndogoyi, ne yeeraliikirira ggwe, ng'agamba nti: ‘Nnaakola ntya olw'omwana wange?’ Awo onoovaawo ne weeyongerayo mu maaso, okutuusa lw'onootuuka ku muvule, oguli e Tabori, gy'onoosanga abasajja basatu, nga bagenda e Beteli okusinza Katonda. Omu ku bo ajja kuba ng'atwala embuzi ento ssatu, omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ensawo ey'eddiba, ey'omwenge ogw'emizabbibu. Awo banaakulamusa, ne bakuwa emigaati ebiri. Ggwe gikkirize. Olwo onooyambuka ku lusozi lwa Katonda, awali olusiisira lw'Abafilistiya. Bw'onooba otuuka mu kibuga, ojja kusanga ekibinja ky'abalanzi, abaserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu, nga balanga, era nga bakulembeddwamu ab'entongooli, n'eŋŋoma, n'endere n'ennanga. Awo Mwoyo wa Mukama anaakukkako n'amaanyi, n'ofuuka omuntu omulala, n'olanga wamu nabo. Obubonero obwo bw'onoolaba nga butuukiridde okole kyonna ky'osobola okukola, kubanga Mukama ali wamu naawe. Ononkulemberamu okugenda e Gilugaali, gye nnaakusanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'okutambira ebiweebwayo olw'okutabagana. Ojja kulindirayo ennaku musanvu, ndyoke nzije nkumanyise eky'okukola.” Awo Sawulo bwe yakyuka n'akuba Samweli amabega okumuvaako, Katonda n'akyusa Sawulo omutima. Era obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. Awo Sawulo n'omuweereza we bwe batuuka ku lusozi, ekibinja ky'abalanzi ne kimusisinkana. Amangwago mwoyo wa Katonda n'amujjako n'amaanyi, n'alanga wamu nabo. Awo bonna abaali bamumanyi okuva edda bwe baamulaba ng'alanga wamu n'abalanzi, ne beebuuzaganya nti: “Kiki ekituuse ku Sawulo mutabani wa Kiisi? Kaakati naye ye omu ku balanzi?” Awo omuntu ow'omu kifo ekyo n'abaddamu n'agamba nti: “Bano kitaabwe ye ani?” Awo we waava enjogera egamba nti: “Ne Sawulo ali mu balanzi?” Sawulo bwe yamala okulanga, n'alaga mu kifo ekigulumivu. Kitaawe omuto owa Sawulo n'abuuza Sawulo n'omuweereza we nti: “Mubadde mulaze wa?” Sawulo n'amuddamu nti: “Tubadde tugenze kunoonya ndogoyi. Awo bwe twalabye nga tezizuuse ne tugenda eri Samweli.” Kitaawe omuto n'agamba nti: “Nkwegayiridde mbuulira Samweli bye yagambye?” Sawulo n'agamba kitaawe omuto nti: “Yatukakasirizza ddala nti endogoyi zaalabise.” Kyokka eby'obwakabaka, Samweli bye yayogera, teyabimubuulirako. Samweli n'ayita abantu. N'abakuŋŋaanya okusinziza Mukama e Mizupa. N'agamba Abayisirayeli nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba bw'ati nti: ‘Nabaggya e Misiri, ne mbawonya okutuntuzibwa Abamisiri, n'amawanga amalala gonna, agaabajooganga. Naye olwaleero, muŋŋaanye nze Katonda wammwe abawonya nze kennyini okubonaabona kwammwe kwonna n'obuyinike bwammwe. Era muŋŋambye nti: “Nedda. Naye teekawo kabaka atufuge.” Kale nno kaakano mukuŋŋaane mu maaso ga Mukama, nga muli mu ŋŋanda zammwe, ne mu bika byammwe.’ ” Awo Samweli n'asembeza w'ali Ebika byonna ebya Yisirayeli. Ekika kya Benyamiini ne kirondebwamu. Samweli n'asembeza w'ali ennyumba ez'omu Kika kya Benyamiini, ennyumba ya Maturi n'erondebwamu. Awo Samweli n'asembeza w'ali abasajja bonna ab'omu nnyumba ya Maturi. Sawulo mutabani wa Kiisi n'alondebwamu. Ne bamunoonya n'abula. Ne beeyongera okubuuza Mukama nti: “Waliwo omusajja atannatuuka wano?” Mukama n'addamu nti: “Wuuli, yeekwese mu bintu.” Awo ne badduka emisinde ne bamuggyayo. Sawulo bwe yayimirira mu bantu, nga bonna abasinga obuwanvu, okuva ku bibegabega bye, okudda waggulu. Awo Samweli n'agamba abantu bonna nti: “Mumulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu bantu bonna?” Abantu bonna ne baleekaana nti: “Kabaka awangaale!” Awo Samweli n'alyoka annyonnyola abantu eby'obwakabaka nga bwe bibeera. N'abiwandiika mu kitabo, n'akitereka mu kifo ekitukuvu. Awo Samweli n'asiibula abantu bonna, buli omu n'addayo ewaabwe. Ne Sawulo naye n'agenda ewuwe e Gibeya. N'agenda n'abasajja abazira, Katonda be yali aluŋŋamizza emitima. Naye ne wabaawo abasirusiru abaagamba nti: “Omusajja oyo alituwonya?” Ne bamunyooma ne batamuleetera birabo, kyokka ye n'asirika. Awo Nahasi Omwammoni n'ayambuka n'alumba ekibuga Yabesigileyaadi, n'akizingiza. Abasajja bonna ab'e Yabesi ne bamugamba nti: “Kola naffe endagaano tukuweerezenga.” Nahasi Omwammoni n'abagamba nti: “Nja kukola nammwe endagaano, bwe munakkiriza okubaggyamu amaaso gammwe gonna aga ddyo, ndyoke nfuule Yisirayeli yonna ekyenyinyalwa.” Abakulembeze ba Yabesi ne bamusaba nti: “Tuwe ekiseera kya nnaku musanvu tutume wonna mu Yisirayeli. Bwe wataliba atununula, tulyewaayo gy'oli.” Ababaka bwe baatuuka e Gibeya ekya Sawulo, ne babuulira abantu ebigambo ebyo. Awo abantu bonna ne batema emiranga ne bakaaba amaziga. Sawulo yali ava mu nnimiro, ng'ajja agoba ente, n'abuuza nti: “Abantu babadde ki? Lwaki bakaaba amaziga?” Ne bamubuulira ebigambo eby'abasajja abavudde e Yabesi. Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Mwoyo wa Katonda n'ajja ku ye n'amaanyi Sawulo n'asunguwala nnyo. N'addira ente bbiri, n'azitemaatemamu ebitundu n'abiwa ababaka babitwale wonna mu Yisirayeli nga bagamba abantu nti: “Buli ataaveeyo kugoberera Sawulo ne Samweli, ente ze za kutemwatemwa bwe zityo.” Mukama n'akuba abantu entiisa, ne bavaayo nga bali bumu. Sawulo n'ababalira e Bezeki. Abaava mu Yisirayeli baali emitwalo amakumi asatu, n'abaava mu Buyudaaya baali emitwalo esatu. Ne bagamba ababaka abajja nti: “Mugambe abantu b'e Yabesi Gileyaadi nti: ‘Enkya ng'omusana gwase, mujja kununulwa.’ ” Ababaka ne bagenda ne bategeeza Abayabesi, Abayabesi ne basanyuka! Awo Abayabesi kyebaava bagamba Abammoni nti: “Enkya tujja kuvaayo tujje gye muli, mutukoleko byonna bye mwagala.” Awo olwatuuka, ku lunaku olwaddirira, Sawulo n'agabanyaamu basajja be ebibinja bisatu. Ne bayingira mu lusiisira lw'Abammoni ng'obudde bunaatera okukya, ne basanjaga Abammoni okutuusa omusana nga gwase. Abaawonawo ne babuna emiwabo, ne watasigala babiri ku bo abali awamu. Abantu ne bagamba Samweli nti: “Baani abagamba nti Sawulo tajja kutufuga? Baleete tubatte.” Naye Sawulo n'agamba nti: “Tewali n'omu anattibwa olwaleero, kubanga luno lwe lunaku Mukama lw'anunuliddeko Yisirayeli.” Awo Samweli n'agamba abantu nti: “Mujje tugende e Gilugaali tunywerezeeyo obwakabaka.” Bonna ne bagenda e Gilugaali, era nga bali eyo e Gilugaali mu maaso ga Mukama, ne balangirira Sawulo nti ye kabaka. Ne batambira ebitambiro eby'ekiweebwayo mu maaso ga Mukama olw'okutabagana. Era eyo Sawulo n'abantu bonna ne bajagulizaayo nnyo. Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mpulirizza byonna bye muŋŋamba, era mbateereddewo kabaka ow'okubafuga. Kaakano wuuyo abakulemberenga. Nze ndi mukadde ow'envi, era mulaba batabani bange abali nammwe. Mbakulembedde okuva mu buvubuka bwange n'okutuuka kati. Nzuuno, munnumirize mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yanfukako omuzigo. Ani gwe nanyagako ente ye? Oba ani gwe nanyagako endogoyi ye? Era ani gwe nali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nali njooze? Oba ani gwe nalyako enguzi okunziba amaaso? Bwe mba nga nnina ku ebyo kye nakola, nja kubibaddizaawo.” Ne bagamba nti: “Totulyazaamaanyanga, totujooganga era totwalanga kintu kya muntu n'omu.” Samweli n'abagamba nti: “Mukama ye mujulirwa abalumiriza, n'oyo gwe yafukako omuzigo ye mujulirwa olwaleero, nga temulabye kintu kye nali ntutte.” Ne baddamu nti: “Ye mujulirwa.” Samweli era n'agamba abantu nti: “Mukama ye yassaawo Musa ne Arooni, era ye yaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri. Kale nno kaakano muyimirire mbalumirize mu maaso ga Mukama olw'ebirungi byonna Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe. Yakobo bwe yagenda e Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama, Mukama n'atuma Musa ne Arooni, ne baggya bajjajjammwe e Misiri, ne babasenza mu nsi eno. Naye bajjajjammwe ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abawaayo mu mikono gya Sisera omukulu w'eggye ly'ekibuga Hazori, ne mu mikono gy'Abafilistiya, ne mu mikono gya kabaka wa Mowaabu, ne babalwanyisa. Awo bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama, ne bagamba nti: ‘Twakola ebibi, kubanga twalekawo Mukama, ne tuweereza balubaale Baali ne Asitarooti. Naye kaakano tukwegayiridde otuwonye abalabe baffe, kale tunaakuweerezanga.’ Awo Mukama n'atuma Yerubbaali ne Bedani, ne Yefuta; ne Samweli, n'abawonya mmwe abalabe bammwe ababeetoolodde, ne mubeera mirembe. Ne mugaana Mukama Katonda wammwe okuba kabaka wammwe, ne muŋŋamba nti: ‘Twagala kabaka ye aba atufuga.’ “Kale kaakano kabaka gwe mulonze wuuno. Mwamusaba, era wuuno Mukama amubawadde okubafuga. Bwe munassangamu Mukama ekitiibwa, ne mumuweerezanga, ne muwulirizanga eddoboozi lye, ne mutajeemeranga biragiro bye, era mmwe ne kabaka wammwe abafuga, bwe munaagobereranga Mukama Katonda wammwe, byonna binaabagenderanga bulungi. Naye bwe mutaawulirizenga ddoboozi lya Mukama, ne mumala mujeemera ebiragiro bye, Mukama anaabalwanyisanga mmwe, nga bwe yalwanyisanga bajjajjammwe. Kale nno kaakano muyimirire mulabe Mukama ky'agenda okukola mu maaso gammwe. Ekiseera kino kya makungula ga ŋŋaano. Naye ŋŋenda okusaba Mukama aleete okubwatuka, atonnyese enkuba mulyoke mumanye era mulabe ng'ekibi kyammwe kye mwakola mu maaso ga Mukama, Mukama okumusaba kabaka, kinene.” Awo Samweli n'asaba Mukama. Mukama n'aleeta okubwatuka, era n'atonnyesa enkuba ku lunaku olwo. Abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samweli, ne bagamba Samweli nti: “Ffe abaweereza bo, tusabire eri Mukama Katonda wo, tuleme okufa, kubanga ku bibi byaffe ebingi, twayongerako na kino eky'okwesabira kabaka.” Samweli n'agamba abantu nti: “Temutya. Mukoze ekibi ekyenkanidde awo, naye temukyamanga ne mulekayo okugobereranga Mukama, wabula mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna. Era temukyamanga ne mugoberera ebitaliimu nsa, ebitayinza kugasa, wadde kuwonya, kubanga tebiriimu nsa. Mukama, olw'erinnya lye ekkulu, tagenda kubaabulira mmwe, kubanga yasiima okubafuula eggwanga lye. Era kikafuuwe nze okukola ekibi ne nnyiiza Mukama nga ndekayo okubasabira. Naye nja kubayigirizanga ekirungi era ekituufu kye muteekwa okukola. Kale mussengamu Mukama ekitiibwa, mumuweerezenga mu bwesigwa n'omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu by'abakoledde. Naye bwe muneeyongera okukola ebibi, mujja kuzikirira mmwe, era ne kabaka wammwe.” Sawulo yali wa myaka…egy'obukulu we yatandikira okufuga, n'afugira Yisirayeli emyaka …ebiri. Sawulo ne yeeroboza mu Bayisirayeli abasajja enkumi ssatu. Ku abo, enkumi bbiri baabeeranga naye e Mikumasi ne mu nsi ey'ensozi ey'e Beteli, olukumi ne babeeranga ne Yonataani e Gibeya mu kitundu kya Benyamiini. Abantu abalala bonna n'abasiibula buli omu okuddayo mu maka ge. Yonataani n'awangula enkambi y'Abafilistiya e Geba, Abafilistiya ne bakiwulira. Awo Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna eggwanga lyonna, ng'agamba nti: “Abeebureeyi bawulire!” Abayisirayeli bonna ne bawulira nti Sawulo awangudde enkambi y'Abafilistiya era nti Abafilistiya beetamiddwa Abayisirayeli. Awo abantu ne bayitibwa beegatte ku Sawulo e Gilugaali. Awo Abafilistiya ne bakuŋŋaana okulwanyisa Abayisirayeli. Baalina amagaali emitwalo esatu, abasajja kakaaga abeebagadde embalaasi, n'abantu abaali abangi ng'omusenyu ogw'oku lubalama lw'ennyanja. Ne bagenda ne basiisira e Mikumasi ku ludda olw'ebugwanjuba bwa Betaveni. Abayisirayeli bwe baalaba nga bali mu kabi, era ng'eggye lyabwe lifumbiikiriziddwa, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka, ne mu mpampagama z'enjazi ne mu bunnya. Abamu ku Beebureeyi ne basomoka omugga Yorudaani ne bayingira mu nsi ya Gaadi n'eya Gileyaadi. Sawulo yali akyali Gilugaali. Abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana. N'amala ennaku musanvu ng'alinda Samweli, nga Samweli bwe yali amulagidde. Kyokka Samweli yali tannajja Gilugaali. Abantu ne batandika okusaasaana nga bava ku Sawulo. Sawulo n'agamba nti: “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'okutabagana.” N'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa. Yali kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samweli n'atuuka. Awo Sawulo n'avaayo okumusisinkana n'okumulamusa. Samweli n'agamba nti: “Okoze ki?” Sawulo n'addamu nti: “Nalabye ng'abantu basaasaana nga banvaako, ate nga naawe tojjidde mu nnaku ze wagamba, n'Abafilistiya nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi; ne ŋŋamba nti Abafilistiya bagenda kuserengeta bannumbe wano e Gilugaali, ate nga sinnaba kwegayirira Mukama kunkwatirwa kisa. Kyennavudde nneewaliriza ne mpaayo ekiweebwayo ekyokebwa.” Samweli n'agamba Sawulo nti: “Okoze kya busirusiru. Tokutte kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakuwa. Singa okikutte, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Yisirayeli ennaku zonna. Naye kaakano obwakabaka bwo tebuube bwa nsikirano. Mukama yeenoonyerezzaayo omuntu gw'asiimye, era oyo gw'alonze okukulembera abantu be, kubanga ggwe tokutte kye yakulagira.” Awo Samweli n'asituka n'ava e Gilugaali n'ayambuka e Gibeya ekya Benyamiini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga. Sawulo ne mutabani we Yonataani, n'abantu abaali awamu nabo, ne basigala e Geba ekya Benyamiini, naye Abafilistiya ne basiisira e Mikumasi. Abaagenda okunyaga ne bafuluma mu lusiisira lw'Abafilistiya nga bali mu bibinja bisatu. Ekibinja ekimu ne kikwata ekkubo erigenda mu Ofura, mu nsi ya Suwali. Ekibinja ekirala ne kikwata erigenda e Beti Horoni ate ekibinja ekirala ne kikwata ekkubo erigenda ku nsalo okwolekera ekiwonvu kya Zeboyiimu, ku ludda olw'eddungu. Mu nsi ya Yisirayeli yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafilistiya baali baweze Abeebureeyi okweweesa ebitala n'amafumu. Abayisirayeli bonna baagendanga mu Bafilistiya okuwagala enkumbi zaabwe, n'ebiwabyo byabwe, n'embazzi zaabwe, n'ebifumu byabwe. Ne babawoozangako ssente bbiri okuwagala enkumbi n'ebiwabyo, ate ne babaggyangako ssente emu okuwagala embazzi, n'okuddaabiriza emiwunda. Kale ku lunaku olw'olutalo, tewaali muntu n'omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonataani, eyalina ekitala, wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonataani. Abafilistiya abaali mu nkambi ne bagenda okukuuma awayingirirwa okulaga e Mikumasi. Awo lwali lumu, Yonataani mutabani wa Sawulo n'agamba omuvubuka eyamukwatiranga ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu tusomoke tugende mu nkambi y'Abafilistiya.” Naye n'atabuulira kitaawe. Sawulo yali ku njegoyego za Gibeya, wansi w'omuti omukomamawanga oguli e Migironi. Abantu abaali naye baali nga lukaaga, wamu ne Ahiya, mutabani wa Ahituubu, muganda wa Yikabodi, mutabani wa Finehaasi, Finehaasi mutabani wa Eli, kabona wa Mukama e Siilo. Ahiya oyo yali ayambadde ekyambalo ekiyitibwa efodi. Abantu tebaamanya nga Yonataani agenze. Wakati awo awayingirirwa, Yonataani we yalina okuyita okutuuka ku nkambi y'Abafilistiya, waaliwo enjazi ku buli ludda ezaalimu empampagama. Olwazi olumu nga luyitibwa Bozezi, n'olulala nga luyitibwa Sene. Olwazi olumu lwali ku ludda olw'ebukiikakkono, okwolekera Mikumasi, ate olulala nga luli ku ludda olw'ebukiikaddyo, okwolekera Geba. Yonataani n'agamba omuvubuka eyamukwatiranga ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu tusomoke tugende mu nkambi eya bano abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera omulimu, kubanga tewali kiziyiza Mukama kununula ng'akozesa abangi, oba abatono.” Eyamukwatiranga ebyokulwanyisa bye n'amugamba nti: “Kola ekikuli ku mutima. Genda mu maaso, nze ndi wamu naawe.” Yonataani n'addamu nti: “Kale, tunaasomoka ne tugenda eri abasajja, ne tweraga gye bali. Bwe banaatugamba nti: ‘Mubeere eyo, okutuusa lwe tunajja gye muli,’ olwo tunaasigala nga tuyimiridde we tuli, ne tutagenda gye bali. Naye bwe banaagamba nti: ‘Mujje gye tuli,’ olwo tunaagenda, kubanga ako ke kanaabeera akabonero akatulaga nti Mukama abagabudde mu mikono gyaffe.” Awo bombi ne beeraga eri enkambi y'Abafilistiya. Abafilistiya ne bagamba nti: “Laba Abeebureeyi bava mu binnya mwe babadde beekwese!” Abasajja ab'omu nkambi ne bakoowoola Yonataani n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Mujje tubalage enkola.” Yonataani n'agamba omukwasi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Jjangu ongoberere, kubanga Mukama abagabudde mu mikono gya Yisirayeli.” Awo Yonataani n'alinnyalinnya ng'ayavula, n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye ng'amugoberera. Yonataani n'agenda ng'abasanjaga, n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye naye n'abatta, ng'amuvaako emabega. Mu lutta olwo olwasooka, Yonataani n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye ne batta abasajja ng'amakumi abiri, mu kibangirizi nga kya kimu kyakubiri ekya yiika. Abafilistiya abaali mu lusiisira n'abaali mu nnimiro, n'abalala bonna, ne bakankana olw'okutya. Abaali mu nkambi era n'abo abaagenda okunyaga, ne batekemuka olw'okutya. Ensi n'ekankana, ne wabaawo entiisa ey'amaanyi, eyaleetebwa Katonda. Awo abakuumi ba Sawulo abaali e Gibeya ekya Benyamiini, bwe baakubayo amaaso ne balaba ekibinja eky'Abafilistiya nga kibuna emiwabo. Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti: “Mubale abantu, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne basanga nga Yonataani n'omukwasi w'ebyokulwanyisa bye tebaliiwo. Sawulo n'agamba Ahiya nti: “Leeta wano Essanduuko ya Katonda.” Ku lunaku olwo, Essanduuko ya Katonda, Abayisirayeli baali bagenze nayo. Awo olwatuuka Sawulo bwe yali ng'ayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira lw'Abafilistiya ne lweyongera. Sawulo n'agamba kabona nti: “Ggyayo omukono gwo.” Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne bagenda awalwanirwa olutalo, ne basanga ng'abantu battiŋŋana olw'okutabukatabuka ennyo okwaliwo. Abeebureeyi abaali ku ludda lw'Abafilistiya, okutuusa mu kaseera ako, abaali bagenze ne basiisira nabo mu lusiisira lwabwe, nabo ne bakyuka, ne beegatta ku Bayisirayeli abaali ne Sawulo ne Yonataani. Era bwe batyo n'abasajja bonna Abayisirayeli abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, bwe baawulira nti Abafilistiya badduse, nabo ne babawondera mu lutalo. Olutalo ne lutuukira ddala e Betaveni. Mukama n'awonya Yisirayeli ku lunaku olwo. Abasajja Abayisirayeli baabonaabona ku lunaku olwo, kubanga Sawulo yalayiza abantu ng'agamba nti: “Omuntu yenna anaabaako k'alya nga tebunnawungeera era nga sinnamala kuwoolera ggwanga ku balabe bange, akolimirwe.” Kale ne wataba n'omu yakomba ku kaakulya. Abantu bonna ne batuuka mu kibira ne basangamu omubisi gw'enjuki nga guli buli wantu. Baalaba omubisi gw'enjuki nga gutonnya, naye ne wataba n'omu agunnyikamu lugalo kugukombako kubanga abantu baatya ekirayiro. Kyokka Yonataani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu. Awo n'agolola omusa gw'omuggo gwe yali akutte, n'agunnyika mu bisenge by'ebisasala by'enjuki, n'aguggyisaako engalo ze, n'akomba, n'addamu amaanyi. Awo omu ku bantu n'agamba nti: “Kitaawo yakuutira abantu n'abalayiza ng'agamba nti: ‘Omuntu anaabaako k'alya olwaleero akolimirwe, abantu kyebavudde baggwaamu amaanyi.’ ” Yonataani n'agamba nti: “Kitange abonyaabonyezza abantu. Kale nze nzizeemu amaanyi kubanga ndezeeko katono ku mubisi gw'enjuki guno! Tekyandisinzeeko obulungi, singa olwaleero abantu baalidde ne bakkuta ku munyago gw'abalabe baabwe gwe baasanze, era tebandisse Abafilistiya bangi okusingawo?” Ku lunaku olwo batta Abafilistiya, okuva e Mikumasi okutuuka mu Ayiyalooni. Mu kiseera ekyo Abayisirayeli baali baweddemu nnyo amaanyi. Ne bagwa ku munyago ne bakwata endiga n'ente ennume n'ennyana, ne bazittira awo, abantu ne balya ennyama ng'erimu omusaayi. Ne babuulira Sawulo nti: “Abantu baabano banyiizizza Mukama, nga balya ennyama erimu omusaayi.” Sawulo n'agamba nti: “Muli ba nkwe! Munjiringisize olwaleero, ejjinja eddene.” N'agamba nti: “Mugende mu bantu mubagambe nti: ‘Mundeetere wano buli muntu ente ye, na buli muntu endiga ye, muzittire wano mulye. Muleme kunyiiza Mukama, nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Ekiro abantu bonna ne baleeta, buli omu ente ye, ne bazittira awo. Sawulo n'azimbira Mukama alutaari. Eyo ye alutaari embereberye Sawulo gye yazimbira Mukama. Sawulo n'agamba nti: “Tuserengete tulumbe Abafilistiya ekiro, tubanyage ebintu okutuusa emmambya lw'eneesala era tubatte bonna obutalekaawo n'omu.” Ne baddamu nti: “Kola buli ky'osiima.” Naye kabona n'agamba nti: “Tusemberere Katonda tumwebuuzeeko.” Awo Sawulo ne yeebuuza ku Katonda nti: “Nserengete nnumbe Abafilistiya, onoobagabula mu mikono gy'Abayisirayeli?” Naye Katonda n'atamuddamu ku lunaku olwo. Awo Sawulo n'agamba nti: “Musembere wano mmwe mwenna abakulembeze b'abantu mumanye era mulabe ekibi nga bwe kikoleddwa olwaleero. Ndayira Mukama omulamu alokola Yisirayeli nti: ne bwe kiba nga kyakoleddwa mutabani wange Yonataani, ajja kufa.” Naye ne watabaawo n'omu mu bantu bonna amuddamu. Sawulo n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mmwe mubeere ku ludda lumu, ate nze ne Yonataani mutabani wange tubeere ku ludda olulala.” Ne bamuddamu nti: “Kola kyonna ky'osiima.” Sawulo n'agamba Mukama Katonda wa Yisirayeli nti: “Salawo ekituufu.” Awo akalulu ne kakwata Yonataani ne Sawulo, abantu ne bawona. Sawulo n'agamba nti: “Mukubire nze ne Yonataani mutabani wange akalulu.” Akalulu ne kakwata Yonataani. Awo Sawulo n'agamba Yonataani nti: “Mbuulira kye wakoze.” Yonataani n'amubuulira, n'agamba nti: “Naleze ku mubisi gw'enjuki nga ntooza omusa gw'omuggo gwe nabadde nkutte. Kale nzuuno, ka nfe!” Sawulo n'agamba nti: “Katonda ambonereze n'obukambwe singa tottibwa, Yonataani!” Awo abantu ne bagamba Sawulo nti: “Ddala Yonataani awangulidde Yisirayeli olutalo luno olw'amaanyi anaafa? Kikafuuwe! Nga Mukama bw'ali omulamu, tewaabe wadde oluviiri olumu bwe luti olunaava ku mutwe gwe, kubanga akoledde wamu ne Katonda leero.” Bwe batyo abantu ne bawonya Yonataani, n'atafa. Sawulo n'alekera awo okuwondera Abafilistiya, Abafilistiya ne baddayo ewaabwe. Sawulo bwe yamala okufuuka kabaka wa Yisirayeli n'alwanyisa abalabe be bonna ku buli ludda; n'alwanyisa ab'e Mowaabu, n'Abammoni n'Abeedomu, ne bakabaka ba Zoba, n'Abafilistiya. Buli gye yalaganga, ng'abayisa bubi. N'alwana n'obuzira, n'awangula Abamaleki. N'awonya Yisirayeli abo abaaginyaganga. Batabani ba Sawulo baali Yonataani ne Yisuvi ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri ge gano: omuggulanda erinnya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali. Muka Sawulo nga ye Ayinowamu, muwala wa Ayimaazi. Omuduumizi w'eggye yali Abuneeri, mutabani wa Neeri, kitaawe omuto owa Sawulo. Kiisi, kitaawe wa Sawulo, ne Neri kitaawe wa Abuneeri, baali batabani ba Abiyeeli. Sawulo mu bulamu bwe bwonna yalwanyisa nnyo Abafilistiya. Bwe yasanganga omusajja ow'amaanyi oba omuzira, ng'amuyingiza mu ggye lye. Awo Samweli n'agamba Sawulo nti: “Mukama nze yatuma okukufukako omuzigo okuba kabaka w'abantu be Abayisirayeli. Kale nno kaakano wulira Mukama bw'agamba. Mukama Nnannyinimagye agamba bw'ati nti: ‘Nja kubonereza Abamaleki olw'ebyo bye baakola Abayisirayeli, bwe baabeekiika mu kkubo, ne babagaana okuyitawo nga Abayisirayeli bava e Misiri. Kaakano genda otte Abamaleki, era ozikiririze ddala byonna bye balina. Era tobasaasira, naye otte bonna: abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, era otte ente, n'endiga, n'eŋŋamiya n'endogoyi.’ ” Sawulo n'ayita abantu n'ababalira e Telayimu. Baali abaserikale emitwalo amakumi abiri ab'ebigere, n'abalala omutwalo gumu abaava mu Buyudaaya. Sawulo n'atuuka mu kibuga kya Amaleki, n'ateegera mu kiwonvu. Awo Sawulo n'agamba Abakeeni nti: “Mugende, muveewo, muve mu Bamaleki, nneme okubazikiriza awamu nabo, kubanga mwayamba Abayisirayeli bonna, bwe baali nga bava mu Misiri.” Bwe batyo Abakeeni ne bava mu Bamaleki. Sawulo n'alwanyisa Abamaleki, okuva mu Havila okutuuka e Suuri, ekyolekera Misiri. N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'amutwala nga mulamu, n'azikiririza ddala abantu bonna. Kyokka Sawulo n'abantu be ne basaasira Agagi, era ne bataliza endiga n'ente ebyasinga obulungi, n'ennyana ezassava, n'abaana b'endiga, na byonna ebyali ebirungi, ne bagaana okubizikiririza ddala, naye ebinyoomebwa n'ebitali bya muwendo, ne babizikiriza. Awo Mukama n'agamba Samweli nti: “Nejjusizza olw'okufuula Sawulo kabaka, kubanga akyuse n'anvaako n'agaana okuwulira ebiragiro byange.” Samweli n'asunguwala, ne yeegayirira Mukama ekiro kyonna. Samweli yakeera nkya n'agenda okusisinkana Sawulo. Ne bamubuulira nti: “Sawulo yatuuka e Karumeeli era eyo ne yeezimbirayo ekijjukizo, n'akyuka n'ayitawo n'aserengeta e Gilugaali.” Awo Samweli n'ajja eri Sawulo. Sawulo n'amugamba nti: “Mukama akuwe omukisa! Ntuukirizza ekiragiro kya Mukama.” Samweli n'agamba nti: “Lwaki ate mpulira endiga ezikaaba, n'ente eziŋooŋa?” Sawulo n'agamba nti: “Baziggye ku Bamaleki ne bazireeta. Abantu baatalizzaawo endiga n'ente ebisinga obulungi bitambirirwe Mukama Katonda wo. Ebirala tubizikiririzza ddala.” Samweli n'agamba Sawulo nti: “Sooka oleke nkubuulire Mukama bye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n'addamu nti: “Yogera.” Samweli n'agamba nti: “Newaakubadde wali weenyooma, tewafuuka mukulembeze wa bika bya Yisirayeli? Mukama yakufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli. Yakutuma okukola omulimu ng'agamba nti: ‘Genda ozikiririze ddala aboonoonyi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lwe balimalibwawo.’ Kale kiki ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, n'ogwa ku munyago, n'okola ekibi ekinyiiza Mukama?” Sawulo n'agamba Samweli nti: “Eddoboozi lya Mukama naligondera, ne ŋŋenda ne nkola omulimu Mukama gwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka w'Abamaleki, ne nsaanyizaawo ddala Abamaleki. Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente ebyasinga obulungi mu ebyo ebyali eby'okuzikiririza ddala, batambirire Mukama Katonda wo.” Samweli n'agamba Sawulo nti: “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa era n'ebitambiro okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lye? Okugonda, ddala kusinga ekitambiro, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume. Obujeemu kye kimu n'ekibi eky'obusamize, n'emputtu kye kimu n'ekibi eky'okusinza ebitali Katonda. Nga bw'ogaanye okukola Mukama ky'akulagidde, Mukama naye akugaanye ku bwakabaka.” Awo Sawulo n'agamba Samweli nti: “Nayonoona, kubanga najeemera ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo. Natya abantu, ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe. Naye kaakano nkwegayiridde, nsonyiwa ekibi kyange, tuddeyo ffembi nsinze Mukama.” Samweli n'addamu nti: “Sijja kuddayo naawe, kubanga wagaana okukola Mukama bye yakulagira, era Mukama akugobye ku bwakabaka bwa Yisirayeli.” Awo Samweli bwe yakyuka okugenda, Sawulo n'amukwata ekirenge ky'ekyambalo, ne kiyulika. Samweli n'amugamba nti: “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Yisirayeli olwaleero n'abuwa omuntu omulala akusinga okuba omulungi. Era Maanyi ga Yisirayeli talimba era teyejjusa. Kubanga si muntu nti yejjuse.” Sawulo n'agamba nti: “Nayonoona, naye nkwegayiridde nzisaamu ekitiibwa kaakano mu maaso g'abakulembeze b'abantu bange, ne mu maaso ga Yisirayeli, oddeyo nange, nsinze Mukama Katonda wo.” Awo Samweli n'addayo ne Sawulo, n'asinza Mukama. Awo Samweli n'agamba nti: “Mundeetere wano Agagi Kabaka w'Abamaleki.” Agagi n'ajja eri Samweli ng'asanyuka, ng'alowooza nti obubalagaze obw'okufa buyise. Samweli n'agamba nti: “Ng'ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw'atyo ne nnyoko bw'anaaba mu bakazi banne nga talina mwana.” Samweli n'atemaatema Agagi mu maaso ga Mukama e Gilugaali. Awo Samweli n'agenda e Raama, ne Sawulo n'agenda mu nnyumba ye e Gibeya ekya Sawulo. Samweli ennaku zonna ez'obulamu bwe, teyaddayo kulaba Sawulo, wabula yanakuwala nnyo olwa Sawulo oyo, kubanga Mukama yennyamira olw'okufuula Sawulo kabaka wa Yisirayeli. Mukama n'agamba Samweli nti: “Olituusa wa okunakuwala olwa Sawulo, nga nze mmaze okumugoba ku bwa kabaka bwa Yisirayeli? Jjuza ejjembe lyo omuzigo, ojje nkutume ewa Yesse Omubetilehemu, kubanga nneesimiidde omu ku batabani be ne mmulonda okuba kabaka.” Samweli n'agamba nti: “Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'anaakiwulira ajja kunzita!” Mukama n'amugamba nti: “Twala ennyana y'ente, ogende nayo, ogambe nti: ‘Nzize okuwaayo ekitambiro eri Mukama.’ Awo oyite Yesse ku kitambiro, era awo ndikubuulira eky'okukola. Ofuke omuzigo ku oyo, gwe nnaakugamba okugufukako.” Awo Samweli n'akola ekyo Mukama kye yagamba, n'ajja e Betilehemu. Abakulu b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana, ne bagamba nti: “Ozze lwa mirembe?” N'agamba nti: “Lwa Mirembe. Nzize okuwaayo ekitambiro eri Mukama. Mwetukuze mujje nange ku kitambiro.” N'atukuza Yesse wamu ne batabani be, n'abayita ku kitambiro. Awo Yesse ne batabani be bwe baatuuka, Samweli n'atunuulira Eliyaabu, n'agamba nti: “Ono ayimiridde mu maaso ga Mukama, ddala y'oyo Mukama gw'anaafukako omuzigo.” Naye Mukama n'agamba Samweli nti: “Totunuulira ndabika ye, wadde obuwanvu bwe, kubanga oyo mmugaanyi. Nze Mukama okulaba okwange tekuli nga kwa bantu. Abantu batunuulira bya kungulu, naye nze ntunuulira kiri mu mutima.” Awo Yesse n'ayita Abinadabu, n'amuyisa mu maaso ga Samweli. Samweli n'agamba nti: “Era n'oyo Mukama tamulonze.” Awo Yesse n'ayisaawo Samma. Samweli n'agamba nti: “Era n'oyo Mukama tamulonze.” Yesse n'ayisa batabani be musanvu mu maaso ga Samweli. Samweli n'agamba Yesse nti: “Mukama talonze abo.” Samweli n'agamba Yesse nti: “Batabani bo bonna weebali wano?” Yesse n'agamba nti: “Ekyasigaddeyo asembayo obuto, ali eyo alunda ndiga.” Samweli n'amugamba nti: “Tuma bamuleete. Tetujja kutuula okutuusa ng'azze wano.” Awo Yesse n'amutumya, n'amuyingiza. Yali mumyufu, nga wa maaso malungi, era nga mulungi mu ndabika ye. Mukama n'agamba Samweli nti: “Situka omufukeko omuzigo, kubanga ye wuuyo.” Awo Samweli n'alyoka addira ejjembe ery'omuzigo, n'amufukako omuzigo ng'ali mu baganda be wakati. Mwoyo wa Mukama n'akka ku Dawudi n'amaanyi, era Mwoyo oyo n'abeeranga naye okuva ku lunaku olwo. Awo Samweli n'asituka n'agenda e Raama. Mwoyo wa Mukama n'ava ku Sawulo, omwoyo omubi ogwasindikibwa Mukama, ne gumubonyaabonya. Abaweereza ba Sawulo ne bamugamba nti: “Omwoyo ogusindikiddwa Katonda guuguno gukubonyaabonya. Kale mukama waffe, kaakano tulagire ffe abaweereza bo, abali mu maaso go, tunoonye omuntu omukugu mu kukuba ennanga. Awo omwoyo ogwo omubi ogusindikiddwa Katonda bwe gunaakujjangako, omuntu oyo anaakubanga ennanga, n'obeeranga bulungi.” Sawulo n'agamba abaweereza be nti: “Munfunire nno omuntu ayinza okukuba obulungi ennanga, mumundeetere.” Awo omu ku bavubuka n'addamu ng'agamba nti: “Nze nalabayo mutabani wa Yesse Omubetilehemu, omukugu mu kukuba, ow'amaanyi era omulwanyi omuzira, omwogezi omulungi, ng'era alabika bulungi, nga ne Mukama ali wamu naye.” Awo Sawulo kyeyava atumira Yesse ababaka n'agamba nti: “Mpeereza Dawudi mutabani wo, alunda endiga.” Yesse n'addira endogoyi, n'agitikka emigaati, n'omwana gw'embuzi, n'ensawo ey'eddiba erimu omwenge ogw'emizabbibu, n'abikwasa mutabani we Dawudi, abitwalire Sawulo. Dawudi n'ajja ewa Sawulo, n'atandika okumuweereza. Sawulo n'amwagala nnyo, era n'amulonda okukwatanga ebyokulwanyisa bye. Sawulo n'atumira Yesse ng'agamba nti: “Dawudi mukkirize abeerenga wano, ng'ampeereza, kubanga mmwagadde nnyo.” Omwoyo omubi ogwasindikibwa Katonda buli lwe gwatawaanyanga Sawulo, nga Dawudi akwata ennanga ng'akuba, olwo omwoyo omubi nga guva ku Sawulo, n'akkakkana, n'aba bulungi. Awo Abafilistiya ne bakuŋŋaanya amagye gaabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko eky'omu Buyudaaya. Ne basiisira mu Efesidammimu wakati wa Soko ne Azeka. Sawulo n'abaserikale be Abayisirayeli ne bakuŋŋaana, era ne basiisira mu kiwonvu ky'e Ela, ne beeteekateeka okulwanyisa Abafilistiya. Abafilistiya ne bayimirira ku kasozi akamu, n'Abayisirayeli ne bayimirira ku kasozi akalala, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu. Mu lusiisira lw'Abafilistiya n'evaayo omusajja omuzira erinnya lye Goliyaati ow'omu kibuga Gaati, ng'obuwanvu bwe aweza kumpi mita ssatu. Yali atikkidde ku mutwe gwe enkuufiira ey'ekikomo, era ng'ayambadde ekizibaawo eky'ekikomo, nga kiweza obuzito bwa kilo ng'amakumi ataano mu musanvu. Era yali ayambadde eby'ekikomo ku magulu ge, ng'alina n'effumu ery'ekikomo ku kibegabega kye. Olunyago lwalyo, ng'obunene lwenkana omuti okulukirwa engoye, ate nga lyo lyennyini, liweza obuzito bwa kilo nga musanvu. Era yalina omukwasi w'engabo ye. Oyo ye yamukulemberangamu. Awo Goliyaati n'ayimirira n'aleekaana ng'agamba ab'eggye lya Yisirayeli nti: “Lwaki mweteekateeka okulwana? Nze ndi Mufilistiya, mmwe muli baweereza ba Sawulo. Mwerondemu omusajja aserengete gye ndi. Bw'anaayinza okunnwanyisa n'anzita, olwo tunaabeera baddu bammwe; naye bwe nnaamuwangula ne mmutta, olwo mmwe munaabeera abaddu baffe okutuweerezanga.” Omufilistiya oyo n'agamba nti: “Nsoomozezza eggye lya Yisirayeli olwaleero. Mumpe omusajja, tulwane ffembi.” Awo Sawulo n'Abayisirayeli bonna bwe baawulira ebigambo ebyo eby'Omufilistiya, ne baggwaamu amaanyi, ne batya nnyo. Dawudi yali mutabani wa Yesse Omwefuraati ow'e Betilehemu eky'omu Buyudaaya, eyalina batabani be munaana. Ku mulembe gwa Sawulo, Yesse oyo yali abalirwa mu bakadde. Batabani be abasatu abasinga obukulu, amannya gaabwe: Eliyaabu omuggulanda, n'amuddako Abinadabu, n'owookusatu Samma, baali bagenze ne Sawulo mu lutalo. Dawudi ye yali asembayo obuto. Bakulu be abo abasatu, be baagoberera Sawulo. Naye Dawudi yagendanga eri Sawulo, ate n'akomawo e Betilehemu okulunda endiga za kitaawe. Enkya n'akawungeezi Omufilistiya yavangayo ne yeeraga, okumala ennaku amakumi ana. Awo Yesse n'agamba Dawudi mutabani we nti: “Yanguwa otwalire baganda bo mu lusiisira, kilo zino ekkumi ez'eŋŋaano ensiike, n'emigaati gino ekkumi. N'omuduumizi omutwalire ebitole bino ekkumi eby'omuzigo omukwafu. Olabe baganda bo bwe bali, era obaggyeko n'ekintu ky'onooleeta okunkakasa nti obalabye. Sawulo ne baganda bo, n'Abayisirayeli bonna, bali mu lutalo mu kiwonvu ky'e Ela balwanyisa Abafilistiya.” Enkeera, Dawudi n'agolokoka mu makya, endiga n'azirekera omuntu ow'okuzirabirira, n'atwala emmere, nga Yesse bwe yamulagira. N'atuuka mu lusiisira, era n'asanga eggye eryali lifuluma okugenda okulwana, nga baleekaana mu maloboozi ag'entalo. Awo Abayisirayeli n'Abafilistiya ne beeteekateeka okulwanagana. Dawudi ebintu bye n'abirekera omukuumi w'etterekero, n'adduka okutuuka mu ggye, n'agenda n'alamusa baganda be. Bwe yali ng'ayogera nabo, omusajja oyo omuzira, Omufilistiya ow'e Gaati, erinnya lye Goliyaati, ne yeesowolayo mu ggye ly'Abafilistiya, n'ayogera nga bwe yali amanyidde okwogera. Dawudi n'abiwulira. Awo abasajja bonna Abayisirayeli bwe baalaba omusajja, ne batya nnyo, ne bamudduka. Abasajja Abayisirayeli ne bagamba nti: “Mulabye omusajja oyo eyeesowoddeyo? Ddala yeesowoddeyo kusoomooza Yisirayeli. Omuntu anaamutta, kabaka ajja kumuwa obugagga bungi era ajja kumuwa ne muwala we amuwase. N'ab'ennyumba ya kitaawe ajja kubafuula ba ddembe mu Yisirayeli”. Awo Dawudi n'abuuza abasajja abaali bayimiridde okumpi naye nti: “Omuntu anatta Omufilistiya ono, n'aggya ekivume ku Yisirayeli, anaakolerwa ki? Ye Omufilistiya ono atali mukomole, ye ani, alyoke asoomooze eggye lya Katonda Nnannyinibulamu?” Abantu ne bamuddamu mu bigambo biri, nga bagamba nti: “Omuntu anaamutta, ajja kuweebwa ebyo.” Ne mukulu we Eliyaabu, n'amuwulira ng'ayogera n'abasajja. Eliyaabu n'asunguwalira Dawudi era n'amubuuza nti: “Ozze kukola ki wano? Era endiga ezo ento wazirekedde ani ku ttale? Mmanyi okwepanka kwo, ggwe kalikyejo! Ekikuleese si kirala, wabula okulaba olutalo!” Dawudi n'agamba nti: “Kaakano nkoze ki? Kibi okubuuza?” N'amuvaako n'akyukira omulala n'amubuuza ekibuuzo kye kimu kiri. Abantu era ne bamuddamu nga bwe baamuzzeemu olubereberye. Abaawulira ebigambo Dawudi bye yayogera, ne babibuulira Sawulo, Sawulo n'amutumya. Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Waleme kubaawo n'omu aggwaamu omwoyo olw'Omufilistiya oyo. Nze omuweereza wo, nja kugenda mmulwanyise.” Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Toyinza kwolekera Mufilistiya oyo kumulwanyisa! Ggwe oli mulenzi bulenzi, ate ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe.” Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Nze omuweereza wo, mbadde nnunda endiga za kitange, ng'empologoma oba eddubu bw'ejja n'enyaga omwana gw'endiga mu kisibo, nga ŋŋenda ne ngiwondera, ne ngirwanyisa ne ngigusuuza. Era nga bw'esituka okunnwanyisa, ngikwata mu malaka, ne ngikuba ne ngitta. Nze omuweereza wo nzise empologoma era n'eddubu. N'Omufilistiya oyo atali mukomole, ajja kuba ng'emu ku zo, kubanga asoomoozezza eggye lya Katonda Nnannyinibulamu.” Dawudi n'agamba nti: “Mukama eyamponya amaala g'empologoma n'ag'eddubu, anamponya anzigye mu mikono gy'Omufilistiya oyo.” Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Kale genda, Mukama abeere naawe.” Awo Sawulo n'ayambaza Dawudi ebyambalo ye yennyini by'ayambala, n'amutikkira enkuufiira ey'ekikomo, era n'amwambaza ekizibaawo eky'ekyuma. Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku byambalo ebyo, n'agezaako okutambula, naye n'atasobola, kubanga yali tabimanyidde. N'agamba Sawulo nti: “Sisobola kugenda nga nnyambadde bino, kubanga sibimanyidde.” Dawudi n'abyeyambulamu. N'akwata omuggo gwe, n'alonda mu kagga amayinja ataano ameekulungirivu, n'agateeka mu kasawo ke, mu nsawo ey'omusumba gye yalina, nga n'envuumuulo ye agikutte, n'asemberera Omufilistiya. Omufilistiya n'ajja n'asemberera Dawudi ng'akulembeddwamu amukwatira engabo. Omufilistiya bwe yatunula n'alaba Dawudi, n'amunyooma, kubanga kaali kalenzi kato, akamyufu era akalungi mu ndabika. Omufilistiya n'abuuza Dawudi nti: “Ndi mbwa, olyoke ojje gyendi n'emiggo?” Omufilistiya n'akolimira Dawudi eri balubaale be. Omufilistiya n'agamba Dawudi nti: “Jjangu gye ndi, omulambo gwo ngugabule ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebisolo eby'omu ttale.” Dawudi n'agamba Omufilistiya nti: “Ojja gye ndi ng'olina ekitala, n'effumu, n'olunyago; naye nze nzija gy'oli mu linnya lya Mukama Nnannyinimagye, era Katonda w'eggye lya Yisirayeli, ly'osoomoozezza. Olwaleero Mukama ajja kukuwaayo gye ndi nkukube wansi nkutemeko omutwe. Era olwaleero ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ebisolo eby'omu ttale nja kubigabula emirambo gy'ab'eggye ly'Abafilistiya, ensi yonna emanye nga mu Yisirayeli mulimu Katonda. Era ekibiina kino kyonna kijja kutegeera nti Mukama abantu be tabanunuza kitala na ffumu, kubanga Mukama ye anaawangula olutalo, era ajja kubawaayo mmwe mu mikono gyaffe.” Awo Omufilistiya bwe yajja okusemberera Dawudi okumulwanyisa, Dawudi n'adduka bunnambiro okwolekera eddwaniro okumusisinkana. Dawudi n'akwata mu nsawo ye, n'aggyamu ejjinja, n'alivuumuula n'akuba Omufilistiya mu kyenyi, ejjinja ne limuyingira ekiwanga n'agwa nga yeevuunise. Bw'atyo Dawudi n'awangula Omufilistiya n'amutta n'envuumuulo n'ejjinja, nga Dawudi talina kitala mu ngalo ze. Awo Dawudi n'adduka, n'agenda ayimirira ku Mufilistiya, n'asowolayo ekitala ky'Omufilistiya mu kiraato kyakyo, n'amutemako omutwe, ng'amaze okumutta. Abafilistiya bwe baalaba ng'omuzira waabwe afudde, ne badduka. Abasajja ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya ne basituka, ne baleekaana, ne bawondera Abafilistiya okutuuka mu kiwonvu, ne ku nzigi z'e Ekurooni. Abafilistiya abaafumitibwa ebiwundu mu lutalo olwo, ne bagwa mu kkubo eridda e Sarayiimu okutuuka e Gaati ne Ekurooni. Abayisirayeli bwe baakomawo nga bava okuwondera Abafilistiya, ne banyaga ebintu mu lusiisira lw'Abafilistiya abo. Awo Dawudi n'akwata omutwe gw'Omufilistiya n'agutwala e Yerusaalemu, kyokka ebyokulwanyisa by'Omufilistiya oyo n'abiteeka mu weema eyiye. Sawulo bwe yalaba Dawudi nga yeesowoddeyo okulwanyisa Omufilistiya, n'abuuza Abuneeri omuduumizi w'eggye nti: “Abuneeri, omulenzi ono mutabani w'ani?” Abuneeri n'addamu nti: “Ndayira mu maaso go, ayi kabaka, simanyi.” Kabaka n'agamba nti: “Buuliriza, omanye kitaawe w'omuvubaka oyo.” Awo Dawudi bwe yakomawo ng'amaze okutta Omufilistiya, Abuneeri n'amutwala eri Sawulo, nga Dawudi akutte mu ngalo ze omutwe gw'Omufilistiya. Sawulo n'amubuuza nti: “Muvubuka, oli mutabani w'ani?” Dawudi n'amuddamu nti: “Ndi mutabani wa muweereza wo Yesse ow'e Betilehemu.” Awo olwatuuka, Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, omutima gwa Yonataani ne gwegattira ddala n'ogwa Dawudi, Yonataani, n'amwagala nga bwe yeeyagala yennyini. Sawulo n'abeera ne Dawudi okuva ku olwo, era n'atamukkiriza kuddayo mu maka ga kitaawe. Awo Yonataani n'atta omukago ne Dawudi, kubanga yamwagala nga bwe yeeyagala yennyini. Yonataani ne yeeyambulamu omunagiro gwe, gwe yali ayambadde, n'aguwa Dawudi, n'amuwa n'ekyambalo kye eky'entalo, n'ekitala, n'omutego ogw'obusaale, era n'olukoba lwe. Dawudi n'agendanga yonna Sawulo gye yamutumanga, n'akolanga na magezi, Sawulo n'amufuula omukulu w'abaserikale. Kino ne kisanyusa nnyo abaweereza ba Sawulo, n'abantu bonna. Awo abaserikale bwe baali nga badda eka, nga Dawudi akomawo ng'amaze okutta Omufilistiya, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Yisirayeli okusisinkana Kabaka Sawulo. Baali bayimba ennyimba ez'essanyu, nga bazina era nga bakuba ensaasi n'ennanga ez'enkoba essatu. Mu kusanyuka okungi bwe kutyo, abakazi ne bayimba nti: “Sawulo yatta nkumi, sso Dawudi mitwalo.” Ebigambo ebyo ne binyiiza Sawulo, n'asunguwala nnyo. N'agamba nti: “Dawudi bamubalidde mitwalo, naye nze nkumi zokka! Kale ekinaddirira si kumufuula kabaka?” Okuviira ddala ku lunaku olwo, Sawulo ne yeekengera Dawudi. Ku lunaku olwaddirira, omwoyo omubi ogwasindikibwa Katonda, ne gufubutukira ku Sawulo, n'alogojjanira mu nnyumba ye. Dawudi n'akuba ennanga nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yali akutte effumu. Sawulo n'agamba nti: “Ka nfumite Dawudi, nkwase n'ekisenge!” N'akasuukirira Dawudi effumu emirundi ebiri. Kyokka buli mulundi, Dawudi ne yeewoma. Sawulo n'atya Dawudi, kubanga Mukama yali naye, kyokka Mukama ng'avudde ku Sawulo. Sawulo kyeyava yeggyako Dawudi, n'amufuula omukulu w'abaserikale lukumi, Dawudi n'abakulemberanga mu ntalo. Byonna Dawudi bye yakolanga, n'abikolanga na magezi, era Mukama n'abanga wamu naye. Sawulo bwe yalaba nga Dawudi byonna by'akola, abikola na magezi mangi nnyo, ne yeeyongera okumutya. Naye abantu bonna mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ne baagala Dawudi, kubanga yali mukulembeze mulungi. Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Muwala wange ono omukulu Merabu, nja kumukuwa omuwase, wabula njagala obeerenga muzira, olwanenga entalo za Mukama.” Sawulo yakola ekyo ng'agamba mu mutima gwe nti: “Nze ka nneme kumutta, naye Abafilistiya be baba bamutta.” Dawudi n'addamu nti: “Nze ani, wadde obulamu bwange, oba ennyumba ya kitange mu Yisirayeli, nze okuwasa muwala wa kabaka?” Naye ekiseera bwe kyatuuka Merabu muwala wa Sawulo okuweebwa Dawudi, ate omuwala oyo n'aweebwa Adriyeepi ow'e Mehola okuba mukazi we. Naye ate Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi. Ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima. Sawulo n'agamba nti: “Ka mmumuwe mmweyambise ng'omutego, Abafilistiya bamulwanyise.” Bw'atyo Sawulo n'agamba Dawudi omulundi ogwokubiri nti: “Ojja kuwasa muwala wange.” Awo Sawulo n'alagira abaweereza be nti: “Mwogere ne Dawudi mu kyama mumugambe nti: ‘Kabaka akusiima, n'abaweereza be bonna bakwagala. Kale kaakano ekiseera kituuse owase muwala wa kabaka.’ ” Awo abaweereza ba Sawulo ne bagamba Dawudi ebigambo ebyo. Dawudi n'ababuuza nti: “Mukiyita kintu kitono okuwasa muwala wa kabaka, naddala ku muntu nga nze omwavu era anyoomebwa?” Abaweereza abo ne bategeeza Sawulo ebyo Dawudi by'agambye. Sawulo n'agamba nti: “Mugambe Dawudi nti: ‘Kabaka tayagala bintu bya buko, wabula ensusu kikumi ezikomoleddwa ku Bafilistiya, olw'okuwoolera eggwanga ku balabe be abo.’ ” Sawulo yalowooza ng'Abafilistiya bajja kutta Dawudi. Awo abaweereza ba Sawulo bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo eky'okuwasa muwala wa kabaka. Ennaku bwe zaali nga tezinnayitawo, Dawudi n'asituka n'agenda ne basajja be, n'atta Abafilistiya ebikumi bibiri. Dawudi n'atwala ensusu ze yabakomolako n'aziwaayo zonna eri kabaka, n'azimubalira, alyoke awase muwala we. Awo Sawulo n'amuwa Mikali muwala we okumufumbirwa. Sawulo n'alaba era n'ategeera nga Mukama yali wamu ne Dawudi, era nga Mikali muwala we, yali ayagala Dawudi. Awo Sawulo ne yeeyongera okutya Dawudi, era n'aba mulabe wa Dawudi obulamu bwe bwonna. Abafuzi b'Abafilistiya baalumbanga, naye buli lwe baalumbanga, nga Dawudi akola bulungi okusinga abaweereza ba Sawulo abalala bonna, erinnya lye ne lyatiikirira nnyo. Awo Sawulo n'agamba Yonataani mutabani we n'abakungu be bonna batte Dawudi. Naye Yonataani mutabani wa Sawulo yali ayagala nnyo Dawudi. Yonataani n'abuulira Dawudi nti: “Sawulo kitange ayagala kukutta. Kale weekuume, enkya ku makya weekweke mu kifo ekyekusifu, obeere eyo. Nja kugenda nnyimirire kumpi ddala ne kitange mu ttale mw'onooba weekwese, mmubuulire ebikukwatako. Bwe nnaabaako kye mmanya, nja kukikubuulira.” Awo Yonataani n'ayogera birungi ku Dawudi ng'ayogera ne Sawulo kitaawe, n'amugamba nti: “Ayi kabaka, tobaako kabi k'okola ku muweereza wo Dawudi, kubanga naye talina kabi ke yali akukoze, era byonna by'akukolera birungi. Dawudi yateeka obulamu bwe mu kabi lwe yatta Omufilistiya, Mukama n'atuusa Yisirayeli ku buwanguzi obutalojjeka. Bwe wakiraba, wasanyuka. Kaakano lwaki oyagala okukola akabi ku muntu ataliiko musango, ng'otta Dawudi awatali nsonga?” Sawulo n'assa omwoyo ku bigambo bya Yonataani, era n'alayira nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa!” Awo Yonataani n'ayita Dawudi, n'amubuulira ebigambo ebyo byonna, n'alyoka atwala Dawudi eri Sawulo. Dawudi n'abeeranga ne Sawulo nga bwe yabeeranga edda. Ne wabalukawo olutalo olulala, Dawudi n'alumba Abafilistiya n'abalwanyisa n'abattamu abantu bangi, abaasigalawo ne badduka. Awo omwoyo omubi ogwasindikibwa Mukama gwali ku Sawulo. Yali atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu, nga ne Dawudi ali awo akuba ennanga. Sawulo n'agezaako okufumita Dawudi effumu, likwase n'ekisenge, naye Dawudi n'amwewoma, Sawulo n'afumita kisenge. Ekiro ekyo Dawudi n'adduka n'awona. Awo Sawulo n'atuma ababaka ku nnyumba ya Dawudi, okumuteega bamutte enkeera mu makya. Mikali mukazi wa Dawudi n'amulabula nti: “Bw'otodduke ekiro kino kuwonya bulamu bwo, enkya ojja kuttibwa.” Awo Mikali n'assiza Dawudi mu ddirisa, Dawudi n'adduka n'awona. Awo Mikali, n'akwata ekifaananyi kya lubaale ow'omu maka n'akigalamiza ku kitanda. N'ateeka emitwetwe waakyo omutto ogwakolebwa mu byoya by'embuzi, n'akibikkako olugoye. Ababaka Sawulo be yatuma bwe bajja okukwata Dawudi, Mikali n'abagamba nti Dawudi alwadde. Sawulo n'atuma ababaka baddeyo balabe Dawudi. N'abagamba nti: “Mumusitulire ku kitanda kye, mumuleete wano, mmutte.” Awo ababaka bwe baayingira, ne basanga ekifaananyi kya lubaale ow'omu maka, nga kye kiri ku kitanda, nga n'omutto ogw'ebyoya by'embuzi guli mitwetwe waakyo. Sawulo n'abuuza Mikali nti: “Lwaki onnimbye bw'otyo n'otolosa omulabe wange?” Mikali n'addamu Sawulo nti: “Yaŋŋambye nti bwe simuleka kugenda, ajja kunzita!” Awo Dawudi n'adduka n'awona, n'agenda eri Samweli e Raama, n'amubuulira byonna Sawulo bye yamukola. Awo Dawudi ne Samweli ne bagenda e Nayoti, ne babeera eyo. Ne babuulira Sawulo nti: “Dawudi wuuli ali Nayoti mu Raama.” Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi. Ne balaba ekibinja ky'abalanzi nga balanga, nga ne Samweli ali nabo, nga ye mukulembeze waabwe. Awo Mwoyo wa Katonda n'ajja ku babaka ba Sawulo, nabo ne balanga. Awo bwe baabuulira Sawulo, n'atumayo ababaka abalala, era nabo ne balanga. Awo Sawulo n'atuma ababaka omulundi ogwokusatu, era nabo ne balanga. Awo naye n'agenda e Raama. Bwe yatuuka ku luzzi olunene oluli e Seku, n'abuuza nti: “Samweli ne Dawudi bali ludda wa?” Ne wabaawo amubuulira nti: “Bali eri e Nayoti mu Raama.” N'ayolekera Nayoti mu Raama. Mwoyo wa Katonda n'ajja ne ku ye, Sawulo n'agenda ng'alanga okutuusa lwe yatuuka e Nayoti mu Raama. N'ayambulamu ebyambalo bye n'alangira mu maaso ga Samweli. N'agalamira ng'ali bwereere olunaku olwo lwonna n'ekiro kyonna. Wano we waava enjogera egamba nti: “Ne Sawulo yafuuka mulanzi?” Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayoti mu Raama, n'agenda eri Yonataani, n'amugamba nti: “Nkoze ki? Musango ki gwe nzizizza? Nsobezza ki eri kitaawo alyoke ayagale okunzita?” Yonataani n'amugamba nti: “Kikafuuwe! Tojja kufa. Kitange talibaako ky'akola ka kibe kinene oba kitono nga tasoose kumbuulirako. Kale kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? Si kituufu.” Dawudi n'alayira, n'agamba nti: “Kitaawo amanyi bulungi ng'onjagala, kyavudde asalawo obutakumanyisa kino ng'agamba nti: ‘Yonataani kino takimanya, aleme okunakuwala.’ Naye mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, nsigazzaayo akabanga katono nfe!” Awo Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Buli kyonna ky'oyagala, nja kukikukolera.” Dawudi n'agamba Yonataani nti: “Enkya luulwo lunaku lwa Kuboneka kwa Mwezi, era nandibadde nteekwa okutuula ne kabaka okulya, naye ndeka ŋŋende nneekweke mu ttale okutuusa akawungeezi k'olunaku oluddirira olwenkya. Kitaawo bw'anaalaba nga siriiwo, ng'omugamba nti: ‘Dawudi yanneegayiridde mmuleke agende e Betilehemu mu kibuga ky'ewaabwe, kubanga ab'ennyumba ya kitaawe bonna, bagenda kuwaayo ekitambiro kye bawaayo buli mwaka.’ Awo bw'agamba nti: ‘Kirungi,’ olwo nze omuweereza wo nnaaba mirembe. Naye bw'anaasunguwala, ng'omanya ng'alina akabi k'ategese okukola. Kale nze omuweereza wo nkwatirwa ekisa, kubanga twatta omukago mu maaso ga Mukama. Naye bwe mba omubi, ggwe wennyini nzita, kubanga tewali nsonga ekuntwazisa eri kitaawo.” Awo Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Ekyo tokirowooza n'akatono, kubanga mbeera kukimanyaako nga kitange alina akabi k'ategese okukukolako, sandikubuulidde?” Dawudi n'abuuza Yonataani nti: “Ani anambuulira nga kitaawo akuzzeemu na bboggo?” Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Jjangu tulage mu ttale.” Ne bafuluma bombi, ne balaga mu ttale. Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli abeere mujulirwa. Enkya mu budde nga buno, oba ku lunaku olunaddirira, nja kukemereza kitange. Bwe nnaalaba ng'akwogerako bulungi ggwe Dawudi, nja kukutumira nkumanyise. Kitange bw'anaaba ayagala okukukolako akabi, ne sikikumanyisa, era ne sikutolosa ogende mirembe, nze Yonataani, Mukama ambonereze n'obukambwe. Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange! Tojja kukoma ku kya kundaga kisa kya Mukama nga nkyali mulamu, nneme kufa, naye n'ennaku zonna, tolisalako kisa kyo ku ba nnyumba yange, wadde Mukama ng'amaze okusalako abalabe ba Dawudi bonna, okubamalawo ku nsi.” Awo Yonataani n'atta omukago n'ennyumba ya Dawudi nti Mukama aliguvunaana abalabe ba Dawudi. Yonataani n'addamu okulayiza Dawudi baagalane, kubanga Yonataani yayagala nnyo Dawudi, nga bwe yeeyagala yennyini. Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Enkya lwe lunaku olw'Okuboneka kw'Omwezi, bajja kulaba nga toliiwo, kubanga entebe yo eneeba njereere. Ku lunaku oluddirira olwenkya ojja kugenda mu kifo gye weekweka ku mulundi guli, obeere eyo, emabega w'ejjinja Ezeli. Awo nja kulasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, nga ndi ng'aliko kye nteeba. Kale bwe nnaatuma omulenzi nga ŋŋamba nti: ‘Genda onoonye obusaale,’ ate ne mmugamba nti: ‘Laba, obusaale buli ku ludda luno gy'oli olulwo, buggyeeyo’, olwo n'olyoka ojja. Nga Mukama bw'ali omulamu, onooba bulungi, nga tewali kabi. Naye bwe nnaagamba omuvubuka nti: ‘Laba, obusaale buli eri mu maaso,’ awo ng'ogenda, kubanga Mukama anaaba akulagidde okugenda. Ku kigambo ekyo kye twogeddeko, nze naawe, Mukama oyo, ye mujulirwa wakati wo nange ennaku zonna.” Awo Dawudi ne yeekweka mu ttale. Ku lunaku olw'Okuboneka kw'Omwezi, kabaka n'atuula ku lujjuliro okulya emmere. Kabaka n'atuula mu kifo kye ekya bulijjo, okumpi n'ekisenge, Yonataani n'atuula ng'atunuuliganye naye, Abuneeri n'atuula ng'aliraanye Sawulo. Ekifo kya Dawudi kyali kyereere. Naye Sawulo talina kye yayogera ku lunaku olwo, kubanga yalowooza nti Dawudi alina ekimutuuseeko n'atabeera mulongoofu, ddala si mulongoofu. Awo olwatuuka, enkeera w'olunaku olw'okuboneka kw'Omwezi, ekifo kya Dawudi era ne kiba kyereere. Sawulo n'abuuza Yonataani mutabani we nti: “Mutabani wa Yesse obutajja kulya olwa jjo wadde olwaleero kiki?” Yonataani n'addamu Sawulo nti: “Dawudi yanneegayiridde nnyo mmukkirize agende e Betilehemu. Yagambye nti: ‘Nkwegayiridde ndeka ŋŋende, kubanga ab'ennyumba yaffe balina omukolo mu kibuga ogw'okuwaayo ekitambiro, era muganda wange yandagidde okubeerayo. Kale bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyavudde tajja ku mmeeza yo, ayi kabaka.” Sawulo n'asunguwalira Yonataani n'amugamba nti: “Ggwe omwana w'omukazi omubambaavu era omujeemu. Olowooza simanyi ng'oli ku ludda lwa mutabani wa Yesse, okweswaza era n'okukwasa nnyoko ensonyi? Manya nti mutabani wa Yesse ng'akyali mulamu ku nsi, tolibaako w'onyweredde ggwe, wadde obwakabaka bwo. Kale kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa!” Yonataani n'addamu Sawulo kitaawe nti: “Lwaki attibwa? Akoze ki?” Awo Sawulo n'akasuka effumu okumufumita. Yonataani kwe yategeerera nga kitaawe amaliridde okutta Dawudi. Enkeera w'olunaku olw'okuboneka kw'Omwezi, Yonataani n'asituka ku mmeeza n'obusungu bungi, n'atalya ku mmere n'akatono, kubanga yanakuwala nnyo olwa Dawudi, kubanga Sawulo kitaawe yali amuwemukidde. Enkeera ku makya n'afuluma n'alaga mu ttale okusisinkana Dawudi, nga bwe baali balagaanye. N'agenda wamu n'omulenzi omuto. N'agamba mulenzi we nti: “Dduka onoonye obusaale bwe ndasa.” Omulenzi n'adduka, Yonataani n'alasa akasaale, ne kasukka omulenzi, ne kagwa eri mu maaso. Omulenzi bwe yatuuka mu kifo akasaale Yonataani ke yalasa we kaagwa, Yonataani n'akoowoola omulenzi nti: “Akasaale kali eri mu maaso! Yanguwa, dduka, tolwawo!” Omulenzi wa Yonataani n'alonda akasaale n'addayo ewa mukama we. Naye omulenzi teyaliiko kye yamanya. Yonataani ne Dawudi bokka be baakimanya. Yonataani n'akwasa omulenzi oyo ebyokulwanyisa bye, n'amugamba nti: “Bitwale mu kibuga.” Omulenzi bwe yamala okugenda, Dawudi n'ava mu kifo ekyali ku ludda olw'ebukiikaddyo, n'avuunama, n'akutama ku ttaka emirundi esatu, ne banywegeragana nga bwe bakaaba, kyokka Dawudi ye yasinga okukaaba. Awo Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Genda mirembe. Ffembi tusigale nga bwe tulayidde mu linnya lya Mukama, nga tugamba nti: ‘Mukama anaabeeranga wakati wange naawe, era wakati w'ezzadde lyange n'eriryo ennaku zonna.’ ” Awo Dawudi n'asituka n'agenda, Yonataani n'addayo mu kibuga. Awo Dawudi n'atuuka e Nobu ewa Ahimeleki kabona. Ahimeleki n'ajja okusisinkana Dawudi ng'akankana, n'amubuuza nti: “Lwaki oli wekka, nga toliiko muntu mulala?” Dawudi n'agamba Ahimeleki kabona nti: “Kabaka alina ky'antumye okukola, era n'aŋŋamba nti: ‘Tobaako muntu n'omu gw'omanyisa ku kye nkutuma, wadde kye nkulagidde.’ Basajja bange nnina we mbalagidde basisinkane. Kale kaakano olinawo ki ekyokulya? Mpaayo emigaati etaano, oba ekirala kyonna ekiriwo.” Kabona n'addamu Dawudi nti: “Sirinaawo migaati gya bulijjo, emigaati emitukuvu gye giriwo, abalenzi bwe baba nga beekuumye obuteegatta na bakazi.” Dawudi n'addamu kabona nti: “Mazima tetusemberedde mukazi okumala ennaku ssatu okuva lwe navaayo. Basajja bange baba batukuvu ne bwe tuba ku lugendo olwa bulijjo. Kati tebasingawo, nga tuli ku lugendo olwenjawulo?” Awo kabona n'awa Dawudi emigaati emitukuvu, kubanga tewaaliwo migaati mirala okuggyako egyo egyali giweereddwayo eri Katonda, egyaggyibwanga mu maaso ga Mukama, era ku lunaku lwe baagiggyangawo, ne bateekawo emirala egyakafumbibwa. Ku lunaku olwo, waaliwo omu ku baweereza ba Sawulo, eyalina ekimusigazizza mu maaso ga Mukama. Erinnya lye yali Dowegi, Omwedomu era omukulu w'abasumba ba Sawulo. Dawudi n'agamba Ahimeleki nti: “Tolinaawo wano ffumu, wadde ekitala? Sireese kitala, wadde ebyokulwanyisa ebirala, kubanga kabaka ky'antumye kibadde kya mangu.” Kabona n'agamba nti: “Ekitala kya Goliyaati Omufilistiya, gwe wattira mu kiwonvu Ela, kye kiriwo. Kiri mabega wa efodi, kizingiddwa mu lugoye. Oba oyagala okutwala ekyo, kitwale, kubanga tewali kirala, okuggyako ekyo.” Dawudi n'agamba nti: “Tewali kikyenkana ekyo; kimpe.” Awo Dawudi n'asituka ku lunaku olwo, olw'okutya Sawulo, n'agenda eri Akisi kabaka w'e Gaati. Abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti: “Ono si ye Dawudi kabaka w'ensi ye? Si y'ono gwe bayimba nga bwe bazina, nga bagamba nti: ‘Sawulo asse enkumi ze naye Dawudi, mitwalo gy'asse!’ ” Dawudi ne yeeraliikirira olw'ebigambo ebyo, n'atya nnyo Akisi, kabaka w'e Gaati. Awo ne yeefuula mu maaso gaabwe, ne yeegwisa eddalu nga bamukutte, n'atakulatakula ku nzigi za wankaaki w'olubiri, n'akulukusa endusu mu kirevu kye. Awo Akisi n'agamba abaweereza be nti: “Abaffe, mulaba omusajja agudde eddalu! Lwaki mumuleese gye ndi? Mulowooza mbuliddwa abalalu, mulyoke mundeetere ekisajja kino, okulalukira mu maaso gange? Ekisajja kino kijje kiyingire mu nnyumba yange?” Dawudi n'ava mu kibuga ky'e Gaati, n'addukira mu mpuku, eri okumpi n'akabuga Adullamu. Baganda be n'ab'omu nnyumba ya kitaawe bonna bwe baawulira nti Dawudi ali eyo, ne bagenda gy'ali. Abantu abaali banyigirizibwa, n'abaali babanjibwa era n'abataali bamativu, ne bagenda ne beegatta ku Dawudi, n'afuuka omukulembeze waabwe. Bonna abaamwegattako ne bawera abasajja ng'ebikumi bina. Dawudi n'avaayo, n'agenda e Mizupa eky'omu Mowaabu, n'agamba kabaka w'e Mowaabu nti: “Kkiriza kitange ne mmange bajje babeere naawe, okutuusa nga mmaze okumanya Katonda ky'agenda okunkolera.” Awo Dawudi n'aleeta bakadde be ewa kabaka w'e Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yamala nga yeekwese mu mpuku. Awo omulanzi Gaadi n'agamba Dawudi nti: “Tobeera mu mpuku, vvaamu ogende e Buyudaaya.” Awo Dawudi n'avaayo, n'agenda mu kibira ky'e Hereti. Awo Sawulo bwe yali e Gibeya, ng'atudde wansi w'omuti omunyulira ku kasozi, ng'akutte effumu mu ngalo, nga ne basajja be bamwetoolodde, n'awulira nga Dawudi n'abasajja be yali nabo, bazuuliddwa gye bali. Sawulo n'agamba abaweereza be abaali bayimiridde okumwetooloola nti: “Muwulire mmwe Ababenyamiini! Mulowooza nti mutabani wa Yesse aliwa buli omu ku mmwe ebibanja n'ennimiro z'emizabbibu, mwenna n'abafuula bakulu mu magye ge, okukulira ebibinja eby'olukumi lukumi, n'eby'ekikumi kikumi? Kyemuvudde mundyamu olukwe? Tewali n'omu ku mmwe yambuulirako, nti mutabani wange, akoze endagaano ne mutabani wa Yesse! Tewali n'omu ku mmwe annumirwa, wadde antegeeza nga mutabani wange, ye apikiriza omuweereza wange okunteega, nga bw'akoze leero!” Awo Dowegi Omwedomu, eyali ayimiridde awo n'abaweereza ba Sawulo, n'addamu nti: “Nalaba mutabani wa Yesse ng'ajja e Nobu eri Ahimeleki mutabani wa Ahituubu. Ahimeleki n'amwebuuliza ku Mukama, era n'amuwa ebyokulya, n'amuwa n'ekitala ekyali ekya Goliyaati Omufilistiya.” Awo kabaka n'atumya Ahimeleki kabona mutabani wa Ahituubu, n'ab'ennyumba ya kitaawe bonna, abaali bakabona e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka. Sawulo n'agamba nti: “Wulira ggwe mutabani wa Ahituubu!” N'amuddamu nti: “Nzuuno, mukama wange.” Sawulo n'amubuuza nti: “Lwaki ggwe ne mutabani wa Yesse mwandyamu olukwe? Wamuwa emmere n'ekitala, n'omwebuuliza ku Katonda, ankyukire okunteega, nga bw'akoze leero.” Ahimeleki n'addamu kabaka nti: “Mu baweereza bo bonna, ani mwesigwa nga Dawudi? Mukoddomi wo, muduumizi w'ekibinja ky'abakuumi bo, era oweekitiibwa mu lubiri lwo. Guno gwe mulundi gwange ogusoose okumwebuuliza ku Katonda? Nedda, si bwe kiri. Naye eky'okukulyamu olukwe ayi kabaka, oleme kukirowooleza nze omuweereza wo, oba omulala yenna ow'omu nnyumba ya kitange, kubanga nze omuweereza wo, sirina kye nkimanyiiko n'akatono.” Awo kabaka n'agamba nti: “Ahimeleki, ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo bonna, muteekwa okufa.” Awo kabaka n'alagira abakuumi abaali bayimiridde w'ali nti: “Mukyuke mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo beegasse ne Dawudi, era kubanga baamanya ng'adduse ne batambuulira!” Naye abakuumi ba kabaka ne bagaana okugolola emikono gyabwe okutta bakabona ba Mukama. Awo kabaka n'agamba Dowegi nti: “Ggwe kyuka otte bakabona.” Dowegi Omwedomu n'akyuka n'atta bakabona. Ku lunaku olwo n'atta bakabona kinaana mu bataano, abambala efodi ey'olugoye. Sawulo era n'azinda Nobu, ekibuga kya bakabona. N'atta abasajja n'abakazi, n'abaana abakuzeemu n'abayonka, era n'ente, n'endogoyi, n'endiga. Naye Abiyataari, omu ku batabani ba Ahimeleki, era muzzukulu wa Ahituubu n'adduka, n'agenda yeegatta ku Dawudi. Abiyataari oyo n'abuulira Dawudi nti Sawulo asse bakabona ba Mukama. Dawudi n'agamba Abiyataari nti: “Bwe nalaba Dowegi Omwedomu mu kibuga Nobu, ne mmanya nti ateekwa okubuulira Sawulo. Kale nze naleetera abantu b'ennyumba ya kitaawo okufa. Sigala nange, totya, kubanga oyo ayagala okunzita, naawe ye ayagala okukutta. Bw'onooba nange ojja kukuumibwa.” Dawudi ne bamubuulira nti Abafilistiya balumbye ekibuga ky'e Keyila, era banyaga n'emmere eyaakakungulwa. Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti: “Ŋŋende nnumbe Abafilistiya?” Mukama n'amuddamu nti: “Genda obalwanyise owonye ekibuga Keyila.” Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti: “Oba nga na wano mu Buyudaaya tuli mu kutya, kale kinaaba kitya bwe tunaagenda n'e Keyila okulwanyisa eggye ly'Abafilistiya?” Awo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nate, Mukama n'amugamba nti: “Situka oserengete e Keyila, kubanga Abafilistiya nja kubakuwa obawangule.” Awo Dawudi ne basajja be ne bagenda e Keyila, ne balwanyisa Abafilistiya, ne babatta nnyo, ne batwala ente zaabwe. Bw'atyo Dawudi n'awonya ab'omu kibuga Keyila. Abiyataari mutabani wa Ahimeleki bwe yadduka ne yeegatta ku Dawudi, yagenda ne efodi e Keyila. Awo ne babuulira Sawulo nti: “Dawudi azze mu kibuga Keyila.” Sawulo n'agamba nti: “Katonda amungabudde, kubanga azingiziddwa, bw'ayingidde mu kibuga ekirina enzigi eziriko ebisiba.” Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okujja mu lutalo okuserengeta e Keyila, bataayize Dawudi ne basajja be. Dawudi bwe yamanya nti Sawulo ateekateeka okumukolako akabi, n'agamba Abiyataari kabona nti: “Leeta wano efodi.” Dawudi n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, mazima mpulidde nti Sawulo ateekateeka okujja e Keyila azikirize ekibuga ku lwange. Kale ab'e Keyila banampaayo mu mikono gya Sawulo? Ddala Sawulo anaaserengeta nga nze omuweereza wo bwe mpulidde? Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, nkwegayiridde mbuulira, nze omuweereza wo.” Mukama n'addamu Dawudi nti: “Sawulo ajja kuserengeta.” Dawudi n'abuuza nti: “Abatuuze b'e Keyila banampaayo ne basajja bange mu mikono gya Sawulo?” Mukama n'addamu nti: “Bajja kukuwaayo.” Awo Dawudi ne basajja be abawera nga lukaaga, ne basituka ne bava e Keyila, ne bagenda buli gye bayinza okugenda. Sawulo bwe yawulira nti Dawudi adduse okuva e Keyila eby'okulumba ekibuga n'abivaako. Dawudi n'abeera mu nsi ey'ensozi, nga yeekwese mu mpuku mu ddungu ly'e Zifu. Sawulo n'amunoonyanga buli lunaku, naye Katonda n'atawaayo Dawudi mu mikono gya Sawulo. Dawudi n'alaba nga Sawulo yali amunoonya okumutta. Olwo, Dawudi yali mu kibira, mu ddungu ly'e Zifu. Yonataani mutabani wa Sawulo, n'asituka n'agenda Dawudi gye yali, n'amugumya nti Katonda taaleme kumukuuma. N'amugamba nti: “Totya, Sawulo kitange tajja kusobola kukukolako kabi. Era ggwe ojja okuba kabaka wa Yisirayeli, nze nkuddirire mu kitiibwa. Ekyo ne Sawulo kitange akimanyi.” Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga Mukama. Dawudi n'asigala mu kibira, Yonataani n'addayo ewuwe. Awo ab'e Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibeya, ne bagamba nti: “Dawudi yeekwese ewaffe mu mpuku, mu kibira, ku Lusozi Hakila oluli ku ludda olw'ebukiikaddyo olw'eddungu ly'e Buyudaaya. Kale kaakano ayi kabaka nga bw'oyagala ennyo okumukwata, jjangu, ffe tujja kumuwaayo mu mikono gyo.” Sawulo n'agamba nti: “Nga bwe munkwatiddwa ekisa, Mukama abawe omukisa olw'okunkwatirwa ekisa. Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye era mulabe ekifo w'abeera, n'omuntu amulabye, kubanga bambuulira nti mugerengetanya nnyo. Kale mulabe era mumanye ebifo byonna, mwe yeekweka n'ateegera, mukomewo mumbuulire ekikakafu, olwo ndyoke ŋŋende nammwe. Kale bw'anaaba mu kitundu ekyo nja kumunoonya, mu nkumi n'enkumi z'Abayudaaya.” Awo ne basituka ne bagenda e Zifu okukukulemberamu Sawulo. Naye Dawudi ne basajja be baali mu ddungu ly'e Mowoni, mu kiwonvu ekiri mu bukiikaddyo, obw'e ddungu ly'e Buyudaaya. Sawulo ne basajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi. Dawudi kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ly'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'awondera Dawudi mu ddungu ly'e Mawoni. Sawulo n'agenda ku ludda olumu olw'olusozi, nga Dawudi ne basajja be bali ku ludda olulala. Awo Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okwewala Sawulo, kubanga Sawulo ne basajja be baali bazingizizza Dawudi ne basajja be enjuyi zonna okubakwata. Naye ne wajja omubaka eri Sawulo, n'agamba nti: “Yanguwa ojje, kubanga Abafilistiya balumbye ensi yo.” Awo Sawulo n'alekera awo okuwondera Dawudi, n'addayo okulwanyisa Abafilistiya. Ekifo ekyo kye baava bakiyita Olwazi Olwawula. Awo Dawudi n'avaayo, n'ayambuka, n'abeera mu mpuku z'e Engedi. Awo Sawulo bwe yakomawo ng'amaze okuwondera Abafilistiya, ne bamubuulira nti: “Dawudi wuuli ali mu Ddungu Engedi.” Sawulo n'alonda mu Yisirayeli yonna abaserikale enkumi ssatu n'agenda okunoonya Dawudi ne basajja be, mu kifo kye bayita Enjazi ez'Empeewo. Awo Sawulo n'atuuka ku mpuku eri okumpi n'ebisibo by'endiga, ku kkubo, n'ayingira omwo okweyamba. Dawudi ne basajja be, baali batudde mu bifo ebyomunda ddala mu mpuku eyo. Basajja ba Dawudi ne bagamba Dawudi nti: “Luno lwe lunaku Mukama lwe yakutegeezaako nti agenda kukugabula omulabe wo, omukoleko ky'oyagala.” Awo Dawudi n'asituka n'agenda, n'asala akatundu ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo, nga Sawulo tategedde. Naye oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala akatundu ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo. N'agamba basajja be nti: “Mukama ambeere, nneme kubaako kabi ke nkola ku mukama wange, Mukama gwe yafukako omuzigo. Siteekwa kumukolako kabi konna, kubanga y'oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.” Awo Dawudi n'aziyiza basajja be n'ebigambo ebyo, n'atabakkiriza kukola kabi ku Sawulo. Sawulo n'asituka, n'ava mu mpuku, n'agenda. Oluvannyuma ne Dawudi n'asituka n'ava mu mpuku, n'akoowoola Sawulo nti: “Mukama wange, kabaka!” Awo Sawulo bwe yakyuka, Dawudi n'amuvuunamira ku ttaka. Dawudi n'agamba Sawulo nti: “Lwaki owuliriza abantu abagamba nti njagala okukukolako akabi? Olwaleero weerabiddeko n'amaaso go nti Mukama abadde akungabudde mu mpuku. Wabaddewo abaŋŋambye okukutta, naye nze ne nkuleka. Ne ŋŋamba nti: Sijja kukola kabi ku mukama wange, kubanga y'oyo Mukama gwe yafukako omuzigo. Era, kitange, laba! Yee, laba ekitundu ky'ekirenge eky'ekyambalo kyo mu ngalo zange. Kale kubanga nsaze ku kirenge ky'ekyambalo kyo, ne sikutta, kw'oba omanyira era okakase, nti sikulinaako kabi wadde okwagala okukujeemera. Onjigganya okunzita, newaakubadde sirina kibi kye nali nkukoze. Mukama asale omusango wakati wo nange. Mukama ye aba awoolera eggwanga olw'ebyo by'onkola, naye nze sigenda kukukolako kabi konna. Ng'olugero lw'ab'edda bwe lugamba nti: ‘Omubi ye akola ekibi’, naye nze sigenda kukukolako kabi. Ggwe kabaka wa Yisirayeli, ani gw'ozze okulumba? Ani gw'ozze okuwondera? Owondera embwa efudde! Enkukunyi! Kale Mukama abe mulamuzi, asale omusango gwaffe, ggwe nange. Atunule mu nsonga, ampolereze, anzigye mu mikono gyo.” Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'agamba nti: “Mwana wange Dawudi, ddala ggwe oyogera?” Sawulo n'atema omulanga, n'akaaba amaziga. N'agamba Dawudi nti: “Ggwe mutuufu, kubanga onkoledde ebirungi, naye nze ne nkusasulamu bibi. Era olwaleero olagidde ddala bw'ompisizza obulungi, kubanga tonzise, nga Mukama angabudde mu mikono gyo. Omuntu bw'asanga omulabe we, amuleka okugenda nga taliiko kabi? Mukama akuwe omukisa olw'ekyo ky'onkoledde olwaleero! Kaakano ntegeeredde ddala nti mazima ojja kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Yisirayeli bujja kunywezebwa nga ggwe ofuga. Kale nno ndayirira mu linnya lya Mukama nti tolizikiriza zadde lyange nga nvuddewo, era nti togenda kusaanyizaawo ddala linnya lyange n'ery'ab'ennyumba ya kitange.” Dawudi n'alayirira Sawulo bw'atyo. Awo Sawulo n'addayo ewuwe, ne Dawudi ne basajja be ne baddayo mu mpuku. Awo Samweli n'afa. Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaana wamu okumukungubagira, ne bamuziika mu maka ge e Raama. Awo Dawudi n'asituka n'aserengeta mu ddungu ly'e Parani. E Mawoni waaliyo omusajja, ng'emirimu gye agikolera Karumeeli. Omusajja oyo yali mugagga nnyo, ng'alina endiga enkumi ssatu, n'embuzi lukumi. Yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Karumeeli. Omusajja oyo, yali ayitibwa Nabali, ne mukazi we, ng'ayitibwa Abigayili. Omukazi yali mutegeevu era nga mulungi mu ndabika ye. Naye bba, eyali ow'omu nnyumba ya Kalebu ye yali wa kkabyo, era nga mubi mu bikolwa bye. Awo Dawudi bwe yali mu ddungu, n'awulira nti Nabali yali asala ebyoya by'endiga ze. N'atuma abavubuka kkumi, n'abagamba nti: “Mwambuke e Karumeeli, mugende eri Nabali, mumunnamusize. Era mu kumulamusa, mumuŋŋambire nti: ‘Emirembe gibe ku ggwe, ne ku b'omu nnyumba yo, ne ku byonna by'olina. Kaakano mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga. Abasumba bo babadde naffe, ne tutabakolako kabi konna. Era ekiseera kyonna kye baamala e Karumeeli, tewaali kintu kyabwe na kimu kyababulako. Buuza abavubuka bo, bajja kukubuulira. Kale nno naawe, okwatirwe abavubuka bange ekisa, kubanga tujjidde ku lunaku olw'okujaguza. Nkwegayiridde, kyonna ky'osobola okiwe abaweereza bo, era nange mutabani wo Dawudi.’ ” Abavubuka ba Dawudi bwe baatuukayo, byonna ne babibuulira Nabali, nga Dawudi bwe yabibatuma, ne balinda. Awo Nabali n'addamu abaweereza ba Dawudi ng'agamba nti: “Dawudi ye ani? Mutabani wa Yesse ye ani? Mu biro bino, waliwo abaddu bangi abadduka ku bakama baabwe, kale nzirire emigaati gyange, n'amazzi gange, n'ennyama gye nzitidde basajja bange abasala ebyoya, mbiwe abantu be simanyiiko gye bavudde?” Abavubuka ba Dawudi ne bakyuka ne baddayo, ne bamubuulira ng'ebyo byonna bwe bibadde. Dawudi n'agamba abasajja be nti: “Mwesibe buli omu ekitala kye!” Buli omu ne yeesiba ekitala kye. Ne Dawudi ne yeesiba ekikye. Abasajja ng'ebikumi bina ne bagoberera Dawudi. Ebikumi ebibiri ne basigala okukuuma ebintu. Awo omu ku baweereza ba Nabali, n'agamba Abigayili muka Nabali nti: “Waategedde? Dawudi yatumye ababaka abaavudde gy'ali mu ddungu okulamusa mukama waffe, naye ye n'abavuma, sso ng'abasajja abo baatuyisa bulungi nnyo. Tetwatuukibwako kabi, era tetulina kintu na kimu kyatubulako ekiseera kyonna kye twamala nabo ku ttale. Baatukuumanga emisana n'ekiro ebbanga lyonna lye twabeera nabo, nga tulunda endiga. Kale nno kaakano osaanidde omanye era olowooze ky'onookola, kubanga bamaliridde okukola akabi ku mukama waffe ne ku b'omu nnyumba ye bonna. Omuntu omubi eyenkanidde awo, tewali ayinza kwogera naye.” Abigayili n'ayanguwa n'addira emigaati ebikumi bibiri, n'ensawo bbiri ez'amaliba ezijjudde omwenge ogw'emizabbibu, n'endiga ttaano enfumbire ddala, n'ebibbo by'eŋŋaano ensiike bitaano, n'ebirimba kikumi eby'emizabbibu emikalu, n'ebitole ebikumi bibiri eby'emitiini, n'abitikka ku ndogoyi. N'agamba abaweereza be nti: “Munkulemberemu mugende, nange mbaveeko emabega.” Kyokka n'atabuulira bba Nabali. Awo Abigayili bwe yali nga yeebagadde endogoyi, aserengeta ng'aweta mu kasonda k'olusozi, amangwago Dawudi ne basajja be ne baserengeta okumwolekera, n'asisinkana nabo. Dawudi yali amaze okugamba nti: “Mazima nakuumira bwereere ebintu by'omusajja oyo byonna, bye yalina mu ddungu, ne watabulawo wadde ekimu? Kale ye ansasudde bibi mu birungi bye namukolera? Nze Dawudi, Mukama ambonereze n'obukambwe, singa we bunaakeerera, nnaaba ndeseewo omusajja, wadde omwana ow'obulenzi mu bantu be bonna b'alina.” Awo Abigayili bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi, n'avuunamira Dawudi, n'akutama ku ttaka. N'agwa ku bigere bya Dawudi, n'agamba nti: “Mukama wange, omusango ogwo gube ku nze, ddala gube ku nze. Era kkiriza omuweereza wo kye ŋŋamba. Nkwegayiridde mukama wange, tofa ku Nabali, omuntu omubi, kubanga ng'erinnya lye bwe liri, naye bw'ali. Nga bw'ayitibwa Nabali, era ddala musiru. Naye nze omuweereza wo, saalaba balenzi ggwe mukama wange be watuma. Kaakano mukama wange, Mukama akuwonyezza okuyiwa omusaayi, n'okuwoolera eggwanga. Kale nno, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, abalabe bo, n'abo abaagala okukukolako akabi, mukama wange, babonerezebwe nga Nabali. Era kaakano mukama wange, ekirabo kino nze omuweereza wo kye nkuleetedde, kiweebwe abavubuka abakugoberera, mukama wange. Nkwegayiridde, nsoyiwa nze omuweereza wo, bye nsobezza. Mukama talirema kukuwa, ggwe mukama wange, bwakabaka bwa nkalakkalira kubanga ggwe, mukama wange, olwana entalo za Mukama. Era tebalikulabamu kibi obulamu bwo bwonna. Singa wabaawo asituka okukuyigganya, ng'ayagala okukutta, obulamu bwo, mukama wange, bujja kusibwa mu muganda gw'abalamu abali awamu ne Mukama Katonda wo, obulamu bw'abalabe bo Mukama abukanyuge, ng'omuntu bw'akanyuga amayinja ng'akozesa envuumuulo. Awo Mukama bw'alimala okukukolera ebirungi byonna bye yakusuubiza ggwe, mukama wange, n'akufuula kabaka wa Yisirayeli, olwo mukama wange, tolibaako kikweraliikiriza wadde kikulumya mwoyo, olw'okuyiwa omusaayi awatali nsonga, oba mukama wange, olw'okuwoolera eggwanga. Era mukama wange, Mukama bw'aliba ng'akuwadde omukisa, kale onzijukiranga nze omuweereza wo.” Dawudi n'agamba Abigayili nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli akutumye olwaleero okusisinkana nange, atenderezebwe. Naawe otenderezebwe olw'amagezi go n'olw'okumponya okuzza omusango ogw'okuyiwa omusaayi n'okuwoolera eggwanga. Nga Mukama, Katonda wa Yisirayeli anziyizizza okukukolako akabi, bw'ali omulamu, mazima ddala singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange, we bwandikeeredde wandibadde tewasigadde musajja wadde omwana ow'obulenzi, mu bantu ba Nabali.” Awo Dawudi n'akkiriza Abigayili by'amuleetedde, n'amugamba nti: “Ddayo mirembe mu nnyumba yo. Mpulidde by'oŋŋambye, era mbikkirizza.” Abigayili n'addayo eri Nabali. Nabali yali afumbye embaga nnene mu nnyumba ye, embaga eyo ng'eri ng'eya kabaka. Yali ng'atamidde nnyo era nga musanyufu, Abigayili kyeyava tabaako ky'amubuulira okutuusa enkeera. Awo enkeera Nabali omwenge bwe gwamwamukako, Abigayili n'amubuulira byonna. Nabali n'akalambala n'afuuka ng'ejjinja. Bwe waayitawo ennaku kkumi, Mukama n'akuba Nabali, Nabali n'afa. Dawudi bwe yawulira nga Nabali afudde, n'agamba nti: “Mukama atenderezebwe, awooledde eggwanga ku Nabali eyanvuma, era aziyizza nze omuweereza we okukola ekibi. Mukama abonerezza Nabali olw'ekibi kye.” Awo Dawudi n'atumira Abigayili ng'amusaba bafumbiriganwe. Abaweereza ba Dawudi ne bagenda eri Abigayili e Karumeeli, ne bamugamba nti: “Dawudi atutumye gy'oli, tukutwale obeere mukazi we.” Awo Abigayili n'asituka n'avuunama ku ttaka, n'agamba nti: “Nzuuno omuweereza wo, neetegese okunaazanga ebigere by'abaweereza ba mukama wange.” Awo Abigayili n'ayanguwa n'asituka, ne yeebagala endogoyi. N'agenda n'abaweereza ba Dawudi, ng'awerekerwa abaweereza be bataano. Abigayili n'afuuka muka Dawudi. Dawudi n'awasa ne Ahinowamu ow'e Yezireeli, bombi ne baba bakazi be. Sawulo yali agabye muwala we Mikali, eyali muka Dawudi, ng'amuwadde Paluti mutabani wa Layisi, ow'e Gallimu. Awo ab'e Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya, ne bamubuulira nti Dawudi yeekwese ku Lusozi Hakila, ku njegoyego z'eddungu ly'e Buyudaaya. Awo Sawulo n'asituka n'aserengeta mu ddungu ly'e Zifu ng'alina abaserikale Abayisirayeli enkumi ssatu abalondemu, ng'agenze okunoonya Dawudi mu ddungu eryo. N'asiisira ku mabbali g'ekkubo ku lusozi Hakila, oluli ku njegoyego z'eddungu ly'e Buyudaaya. Dawudi yali mu ddungu, n'alaba nga Sawulo atuuse mu ddungu amunoonya. Dawudi kyeyava atuma abakessi, n'akakasa nti ddala Sawulo atuuse. Awo Dawudi n'asituka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N'alaba Sawulo we yeebase, wamu ne Abuneeri mutabani wa Neeri, era omukulu w'eggye lya Sawulo. Sawulo yali agalamidde munda mu lusiisira, nga basajja be basiisidde okumwetooloola. Awo Dawudi n'abuuza Ahimeleki Omuhiiti, ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya nti: “Ani anaaserengeta nange eri Sawulo mu lusiisira?” Abisaayi n'addamu nti: “Nze nnaaserengeta naawe.” Ekiro Dawudi ne Abisaayi ne bayingira mu lusiisira lwa Sawulo, ne basanga Sawulo ng'agalamidde, yeebase munda mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa emitwetwe we. Abuneeri n'ab'eggye baali beebase okwetooloola Sawulo. Abisaayi n'agamba Dawudi nti: “Katonda agabudde omulabe wo mu mikono gyo olwaleero. Kale leka mmufumite effumu omulundi gumu, limuyitemu likwase n'ettaka, era sijja kufumita gwakubiri.” Naye Dawudi n'agamba Abisaayi nti: “Tomuzikiriza. Ddala ani ayinza okukola akabi ku oyo Mukama gwe yafukako omuzigo, n'atabaako musango?” Dawudi era n'agamba nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ye alimutta, oba entuuko ze ez'okufa ze zirituuka n'afa, oba aligenda mu lutalo n'afiirayo. Kikafuuwe nze okukola akabi ku muntu Mukama gwe yafukako omuzigo. Kaakano kwata effumu eriri emitwetwe we, n'ensumbi y'amazzi, tuve wano.” Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi, ng'abiggya kumpi ddala n'omutwe gwa Sawulo, ne bagenda. Tewaali n'omu eyalaba kino oba eyakimanya, wadde eyazuukuka, kubanga bonna baali beebase nnyo. Mukama ye yabeebasa otulo otwo otungi. Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri n'ayimirira wala ku ntikko y'olusozi, ng'abeesuddeko ebbanga ddene. N'akoowoola ab'omu ggye ne Abuneeri mutabani wa Neeri nti: “Owange ggwe Abuneeri! Toyitaba?” Abuneeri n'abuuza nti: “Ani oyo aleekaana anaazuukusa kabaka?” Dawudi n'agamba Abuneeri nti: “Toli musajja? Era ani akwenkana mu Yisirayeli! Kale lwaki tokuumye mukama wo kabaka? Waliwo omuntu ayingidde okuzikiriza kabaka mukama wo. Kino ky'okoze si kirungi! Nga Mukama bw'ali omulamu musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako omuzigo. Kaakano mutunule mulabe, effumu lya kabaka n'ensumbi ebibadde emitwetwe we, biri ludda wa?” Sawulo n'amanya nti eryo eddoboozi lya Dawudi, n'abuuza nti: “Eryo ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Dawudi n'addamu nti: “Nze njogera mukama wange, ayi kabaka.” Dawudi era n'agamba nti: “Mukama wange, onjigganyiza ki nze omuweereza wo? Nkoze ki? Oba musango ki gwe nzizizza? Kale ayi kabaka, nkwegayiridde, mukama wange, owulire ebigambo byange, nze omuweereza wo. Mukama bw'aba nga ye yakulagira okunjigganya, akkirize mmuwe ekiweebwayo. Naye bwe baba nga bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga kaakano bangobye okuva mu nsi ya Mukama, nga bagamba nti: ‘Genda oweereze balubaale.’ Kale omusaayi gwange guleme kuyiibwa mu nsi Mukama mw'atali. Kabaka wa Yisirayeli, azze okunoonya nze enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi.” Awo Sawulo n'addamu nti: “Nkoze bubi, komawo mwana wange Dawudi! Sigenda kwongera kukukolako kabi nate, kubanga otalizza obulamu bwange olwaleero. Ddala mbadde musiru era nsobezza nnyo nnyini.” Dawudi n'addamu nti: “Effumu lyo liirino, ayi kabaka! Omu ku bavubuka ajje alinone. Mukama asasule buli muntu ng'obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe bwe buli. Olwaleero Mukama yakuwaddeyo mu mikono gyange, naye ne sikukolako kabi kubanga Mukama yakufukako omuzigo. Nga bwe ntalizza obulamu bwo olwaleero, ne Mukama atalize obulamu bwange, era ampise mu bizibu byonna.” Sawulo n'agamba Dawudi nti: “Oweebwe omukisa mwana wange! Olikola eby'amaanyi, era tolirema kuwangula.” Awo Dawudi n'akwata amakubo ge, ne Sawulo n'addayo mu lubiri lwe. Awo Dawudi n'alowooza mu mutima gwe nti: “Luliba lumu Sawulo n'anzita. Ekisinga obulungi ka nzirukire mangu mu nsi y'Abafilistiya. Olwo Sawulo alirekera awo okunnoonya mu Yisirayeli, era ndiba n'emirembe.” Awo Dawudi n'asituka ne basajja be olukaaga abaali naye, n'agenda ewa Akisi, mutabani wa Mawoki, kabaka w'e Gaati. Dawudi ne basajja be, ne basenga eyo ne babeera ne Akisi e Gaati, buli omu ng'ali n'ab'omu maka ge. Dawudi yali ne bakazi be bombi: Ahinowamu gwe yawasa e Yezireeli, ne Abigayili nnamwandu wa Nabali ow'e Karumeeli. Sawulo bwe yawulira nti Dawudi addukidde e Gaati, eby'okumunoonya n'abivaako. Awo Dawudi n'agamba Akisi nti: “Bw'oba ng'onsiimye, nzikiriza mbeere mu kamu ku bubuga obw'omu byalo, kubanga ssebo nze omuweereza wo, tewali kintuuza mu kibuga ekikulu awamu naawe.” Awo Akisi n'amuwa akabuga Zikulagi ku lunaku olwo. Era okuva olwo Zikulagi ne kiba kya bakabaka ba Buyudaaya. Dawudi n'abeera mu Filistiya okumala omwaka gumu n'emyezi ena. Awo Dawudi ne basajja be ne bambuka ne balumba Abagesuri n'Abagiruzi n'Abamaleki, okuva edda abaali abatuuze b'omu kitundu ekyo, okuva e Suuri okutuukira ddala ku nsalo ne Misiri. Dawudi ensi eyo n'agizikiriza n'atalekaamu musajja, wadde omukazi, n'anyaga endiga n'ente n'endogoyi n'eŋŋamiya, n'ebyambalo, n'alyoka addayo ewa Akisi. Akisi n'amubuuza nti: “Walumbye kitundu ki leero?” Dawudi n'addamu nti: “Nalumbye kitundu eky'ebukiikaddyo obwa Buyudaaya, n'ekitundu eky'ebukiikaddyo eky'Abayerameeli, n'ekitundu eky'ebukiikaddyo eky'Abakeeni.” Dawudi n'atalekanga musajja wadde omukazi nga mulamu waleme kubaawo aleeta mawulire e Gaati, ng'agamba nti: “Sikulwa nga batuloopa nga bagamba nti: ‘Dawudi yakola bw'ati ne bw'ati.’ ” Bw'atyo Dawudi bwe yakolanga ebbanga lyonna lye yamala mu nsi y'Abafilistiya. Awo Akisi ne yeesiga Dawudi, ng'agamba nti: “Ddala yeekyayisizza abantu be Abayisirayeli, ajja kubeeranga muweereza wange ennaku zonna.” Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafilistiya ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe, okulwanyisa Abayisirayeli. Akisi n'agamba Dawudi nti: “Kimanyire ddala nti ggwe ne basajja bo mujja kugenda nange mu lutalo.” Dawudi n'agamba nti: “Kale, onoomanya nze omuweereza wo, kye nnyinza okukola.” Akisi n'agamba Dawudi nti: “Kale nja kukufuula omukuumi wange ow'olubeerera.” Awo Samweli yali afudde. Abayisirayeli bonna baali bamukungubagidde, era nga bamuziise mu kibuga kye e Raama. Sawulo yali agobye abalaguzi n'abasamize mu ggwanga. Awo Abafilistiya ne bakuŋŋaana, ne bajja ne basiisira e Sunemu. Sawulo n'akuŋŋaanya Abayisirayeli bonna ne basiisira e Gilubowa. Sawulo bwe yalaba eggye ly'Abafilistiya, n'atya n'akankana nnyo. Awo Sawulo ne yeebuuza ku Mukama, kyokka Mukama n'atamuddamu, wadde mu birooto wadde mu kukozesa Wurimu wadde ng'ayita mu balanzi. Awo Sawulo n'agamba abaweereza be nti: “Munnoonyeze omukazi omusamize ŋŋende mmwebuuzeeko.” Abaweereza be ne bamugamba nti: “Waliwo omukazi omusamize abeera mu Endori.” Awo Sawulo ne yeefuusa, n'ayambala ebyambalo ebirala. N'agenda ne basajja be babiri eri omukazi oyo ekiro, n'agamba nti: “Nkwegayiridde ndagula nga weebuuza ku mizimu era ompitire omuzimu gw'omuntu oyo, gwe nnaayogera erinnya.” Omukazi n'amugamba nti: “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yamalawo abalaguzi n'abasamize mu Yisirayeli. Kale kaakano lwaki ogezaako okunkema, n'okunsuula mu mutego okunzisa?” Sawulo n'amulayirira Mukama, ng'agamba nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, tojja kubonerezebwa olw'okukola kino.” Omukazi n'amugamba nti: “Nkuyitire ani?” N'amugamba nti “Mpitira Samweli.” Awo omukazi bwe yalaba Samweli, n'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba Sawulo nti: “Onnimbidde ki? Ye ggwe Sawulo!” Kabaka n'amugamba nti: “Totya! Olaba ki?” Omukazi n'addamu nti: “Ndaba lubaale ng'ava mu ttaka ayambuka.” N'amubuuza nti: “Afaanana atya?” Omukazi n'addamu nti: “Musajja mukadde ye ayambuka, era yeesuuliddeko omunagiro.” Awo Sawulo n'amanya nti ye Samweli, n'avuunama ku ttaka okumuwa ekitiibwa. Samweli n'abuuza Sawulo nti: “Lwaki ontawaanyizza ng'ompita okuva emagombe?” Sawulo n'addamu nti: “Neeraliikiridde nnyo! Abafilistiya bannwanyisa, ate Katonda andeseewo, era takyanziramu newaakubadde mu balanzi, wadde mu birooto. Kyenvudde nkuyita ombuulire kye mba nkola.” Awo Samweli n'agamba nti: “Lwaki obuuza nze nga Mukama akuleseewo, era ng'afuuse mulabe wo? Mukama yennyini akoze kye yakugamba ng'ayita mu nze. Akuggyeeko obwakabaka bwo, n'abuwa munno Dawudi, kubanga wajeemera ekiragiro kya Mukama n'otatuukiriza busungu bwe obungi ku Bamaleki, kyavudde akukolako ekyo kaakano. N'ekirala, ggwe n'Abayisirayeli Mukama ajja kubawaayo mu mikono gy'Abafilistiya. Enkya ggwe ne batabani bo mujja kuba nange, era Mukama anaawaayo eggye lya Yisirayeli mu mikono gy'Abafilistiya.” Amangwago Sawulo n'agwa ku ttaka, n'alambaala, ng'atidde nnyo olw'ebyo Samweli bye yayogera. N'aggweeramu ddala amaanyi, kubanga yali talina ky'alidde olunaku lwonna emisana n'ekiro. Omukazi n'asembera awali Sawulo, n'alaba nga Sawulo atidde nnyo. N'amugamba nti: “Nze omuweereza wo, nawulidde ky'oŋŋamba ne nneewaayo, ne nkukolera kye wansabye. Kale kaakano nkwegayiridde, naawe okole kye nkusaba. Kkiriza nteeke akamere mu maaso go, olye lw'onoofuna amaanyi ag'okutambula ogende.” Sawulo n'agaana, n'agamba nti: “Sijja kulya!” Kyokka abaweereza be awamu n'omukazi, ne bamuwaliriza, n'akkiriza kye bamugamba. Awo n'asituka n'ava ku ttaka, n'atuula ku kitanda. Omukazi yalinawo ennyana eyassava mu nnyumba. N'ayanguwa n'agitta. N'atoola n'eŋŋaano, n'agigoya, n'afumbamu omugaati ogutazimbulukusiddwa. N'abireetera Sawulo n'abaweereza be, ne balya. Ne basituka ne bagenda ekiro ekyo. Abafilistiya ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna ku Afeki. Abayisirayeli bo ne basiisira okuliraana oluzzi lw'e Yezireeli. Abafuzi b'Abafilistiya bwe baayitawo n'ebibinja byabwe eby'abasajja olukumi lukumi n'eby'ekikumi kikumi, Dawudi ne basajja be wamu ne Akisi, nabo ne bayitawo nga be basembayo. Abaduumizi b'Abafilistiya ne babagamba nti: “Abeebureeyi bano bakola ki wano?” Akisi n'agamba abaduumizi b'Abafilistiya nti: “Ono ye Dawudi omuweereza wa Sawulo kabaka wa Yisirayeli. Abadde nange okumala ebbanga ddene, era sirina kibi kye nali mmulabyeko, okuva lwe yansenga n'okutuusa kati.” Naye abaduumizi b'Abafilistiya ne basunguwalira Akisi, ne bamugamba nti: “Lagira omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa, aleme kugenda naffe mu lutalo, sikulwa ng'atuuka mu lutalo n'afuuka omulabe waffe. Ogamba omusajja ono tajja kwetabaganya ne mukama we ng'awaayo mitwe gy'abaserikale baffe? Ono si ye Dawudi gwe baayimbanga nga bazina, nga bagamba nti: ‘Sawulo yatta nkumi, sso Dawudi mitwalo’ ” Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, obadde mwesigwa. Ku lwange ndaba nga kirungi okukuleka ne tugenda ffenna mu lutalo, kubanga sikulabangako nsobi okuva lwe wajja gye ndi n'okutuusa kati. Naye abafuzi abalala tebakwagala. Kale kaakano ddayo, ogende mirembe, oleme okunyiiza abafuzi b'Abafilistiya.” Dawudi n'agamba Akisi nti: “Naye nkoze ki? Oba kiki kye wali ondabyeko nze omuweereza wo, okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza n'okutuusa kati, ekinziyiza okugenda ne nnwanyisa abalabe bo, mukama wange kabaka?” Akisi n'addamu Dawudi nti: “Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda. Naye abaduumizi b'Abafilistiya bagambye nti: ‘Tojja kugenda naffe mu lutalo.’ Kale nno enkya, ggwe n'abaweereza ba mukama wo, abajja naawe, mujja kuzuukuka mu makya, mugende amangu ddala ng'obudde bwakalaba.” Awo Dawudi ne basajja be ne bazuukuka mu makya, ne bakeera okuddayo mu nsi y'Abafilistiya. Bo Abafilistiya ne bambuka e Yezireeli. Awo Dawudi ne basajja be ne batuuka e Zikulagi ku lunaku olwokusatu, ne basanga ng'Abamaleki balumbye ekitundu eky'ebukiikaddyo obwa Buyudaaya n'ekibuga Zikulagi, era nga bamaze okuwangula Zikulagi, n'okukyokya omuliro, era nga banyaze abakazi, ne bonna abaakirimu abato n'abakulu. Tebatta muntu n'omu, baabatwala butwazi, ne bagenda. Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, ne basanga nga kyokeddwa omuliro, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga banyagiddwa. Awo Dawudi n'abo abaali naye ne batema emiranga ne bakaaba amaziga, okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba. Ne bakazi ba Dawudi bombi: Ahinowamu ow'e Yezireeli, ne Abigayili nnamwandu wa Nabali ow'e Karumeeli, baali banyagiddwa. Dawudi n'anakuwala nnyo, kubanga abantu baagamba okumukuba amayinja. Abantu bonna omwoyo gwabaluma, nga balumirwa batabani baabwe ne bawala baabwe. Naye Dawudi n'afuna amaanyi mu kwesiga Mukama Katonda we. Dawudi n'agamba Abiyataari kabona mutabani wa Ahimeleki nti: “Nkwegayiridde ndeetera wano efodi.” Abiyataari n'aleeta efodi eri Dawudi. Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Mpondere abanyazi abo? Nnaabakwata?” Mukama n'amuddamu nti: “Bawondere. Ddala ojja kubakwata era onunule abawambe.” Awo Dawudi n'abasajja olukaaga abaali naye ne bagenda. Bwe baatuuka ku kagga Besori, abamu ku bo ne basigala awo. Dawudi ne yeeyongerayo n'abasajja ebikumi bina, kubanga ebikumi ebibiri baali bakooye nnyo, nga tebasobola kusomoka kagga, ne basigala awo. Abasajja abaali ne Dawudi ne basanga Omumisiri mu ttale, ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bawa Omumisiri oyo emmere n'alya, era ne bamuwa amazzi n'anywa. Ne bamuwa n'ekitole ky'ettiini, n'ebirimba by'emizabbibu ebikalu bibiri. Bwe yamala okulya, n'afuna amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu nga talya, era nga tanywa, emisana n'ekiro. Dawudi n'amubuuza nti: “Mukama wo ye ani, era ova wa?” N'addamu nti: “Nze ndi mulenzi Mumisiri, omuddu w'Omwamaleki. Mukama wange yansuula ennaku ssatu eziyise, kubanga mbadde mulwadde. Twabadde tulumbye ekitundu eky'ebukiikaddyo eky'Abakereti, n'ekitundu kya Buyudaaya, n'ekitundu eky'ebukiikaddyo ekya Kalebu, era ne twokya Zikulagi omuliro.” Dawudi n'amugamba nti: “Oyinza okuntwala n'ontuusa ku banyazi abo?” Oli n'addamu nti: “Ndayirira Katonda nti togenda kunzita, wadde okumpaayo eri mukama wange, olwo nja kukutwala nkutuuse ku banyazi abo.” Bwe yamutuusaayo, ne basanga nga basaasaanye wonna, nga balya, banywa era nga bajaguza olw'omunyago omunene gwe baali bafunye okuva mu Filistiya ne mu Buyudaaya. Awo nga buwungeera, Dawudi n'abalumba, n'abalwanyisa okutuusa akawungeezi ak'olunaku olwaddirira. Era ku bo ne watabaawo n'omu awonawo, okuggyako abavubuka ebikumi bina, abeebagala eŋŋamiya ne badduka. Dawudi n'akomyawo ebintu byonna, n'abantu bonna Abamaleki be baali banyaze, n'akomyawo bakazi be bombi. Tewali kintu kyabwe na kimu kyabula, ka kibe kitono oba ekinene, ka babe baana ab'obulenzi oba ab'obuwala, ka gube munyago oba ekintu kyonna Abamaleki kye beenyagira. Dawudi n'akomyawo byonna. Dawudi n'atwala amagana g'endiga n'ente gonna, ne bazigoba okukulemberamu ensolo ezo endala, nga bagamba nti: “Guno gwe munyago gwa Dawudi.” Awo Dawudi n'agenda eri abasajja ebikumi ebibiri, abaali bakooye ennyo ne batayinza kugenda naye era abaasigala ku kagga Besori. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye. Dawudi bwe yabatuukako, n'abalamusa. Awo abasajja bonna ababi era abatalina mugaso, mu abo abaali bagenze ne Dawudi ne bagamba nti: “Nga bwe bataagenda wamu naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tuleese, wabula batwale bakazi baabwe n'abaana baabwe bagende.” Naye Dawudi n'agamba nti: “Baganda bange, temujja kukola bwe mutyo, ku ebyo Mukama by'atuwadde! Atukuumye n'atuwa okuwangula abanyazi abaatulumba. Era tewali ajja kuwuliriza bye mugamba. Eyasigala ng'akuuma ebintu, n'oyo eyagenda ku lutalo, bateekwa okufuna omugabo gwe gumu, bajja kugabana kyenkanyi.” Okuva ku lunaku olwo, eryo Dawudi n'alifuula tteeka era mpisa mu Yisirayeli n'okutuusa kati. Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza mikwano gye, abakulembeze ba Buyudaaya, ku munyago ng'agamba nti: “Kino ekirabo kye mbaweerezza, kivudde ku munyago gwe twaggya ku balabe ba Mukama.” N'akiweereza ab'e Beteli, n'ab'e Ramoti eky'omu bukiikaddyo, n'ab'e Yattiri, n'ab'e Aloweri, n'ab'e Sifumoti, n'ab'e Esitemowa, n'ab'e Rakali, n'ab'omu bibuga by'Abayerameeli n'ab'omu bibuga by'Abakeeni n'ab'e Horuma, n'ab'e Horasani, n'ab'e Ataki n'ab'e Heburooni, ne mu bifo byonna Dawudi ne basajja be bye baatambulatambulangamu. 21 Awo Abafilistiya ne balwanyisa Abayisirayeli, Abayisirayeli ne badduka Abafilistiya, era Abayisirayeli bangi ne battirwa ku lusozi Gilubowa. Abafilistiya ne bawondera Sawulo ne batabani be, ne batta Yonataani, ne Abinadabu ne Malukisuwa batabani ba Sawulo. Olutalo ne lunyigiriza nnyo Sawulo, abalasi b'obusaale ne bamusanga ne bamulasa obusaale n'afuna ebisago eby'amaanyi. Sawulo n'agamba oyo eyakwatanga ebyokulwanyisa bye nti: “Ggyayo ekitala kyo onzite, abo abatali bakomole, baleme okujja ne banzita, ne banswaza.” Naye eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo n'agaana, kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava akwata ekitala kye n'akyetungako. Awo eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeetunga ku kitala kye, n'afiira wamu naye. Sawulo ne batabani be abasatu, n'omuvubuka eyakwatanga ebyokulwanyisa bye, era ne basajja be bonna ne bafiira wamu ku lunaku olwo. Abayisirayeli abaali emitala w'ekiwonvu, n'abo abaali emitala wa Yorudaani, bwe baalaba ng'eggye lya Yisirayeli lidduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafilistiya ne bajja ne babibeeramu. Awo enkeera, Abafilistiya bwe bajja okwambula abafu, ne basanga enjole ya Sawulo, n'emirambo gya batabani be abasatu, nga gigudde ku lusozi Gilubowa. Sawulo ne bamutemako omutwe era ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafilistiya okutuusaayo amawulire ago mu masabo, omwali ebifaananyi bye basinza, era ne mu bantu. Ebyokulwanyisa bya Sawulo ne babiteeka mu ssabo lya lubaale omukazi Asitarooti, ne bakomerera enjole ye ku kisenge ky'ekibuga ky'e Betisaani. Abatuuze b'e Yabesigileyaadi bwe baawulira ekyo Abafilistiya kye baakola Sawulo, awo abasajja abazira bonna ne basituka, ne batambula ekiro kyonna, ne bawanulayo enjole ya Sawulo n'emirambo gya batabani be ku kisenge ky'ekibuga Betisaani, ne bagireeta e Yabesi ne bagyokera eyo. Ne batwala amagumba gaabwe ne bagaziika e Yabesi wansi w'omuti omunyulira, era ne basiiba okumala ennaku musanvu. Awo Sawulo ng'amaze okufa, Dawudi n'akomawo e Zikulagi ng'amaze okutta Abameleki, era n'abeera eyo okumala ennaku bbiri. Ku lunaku olwokusatu omusajja n'atuuka, ng'ava mu lusiisira lwa Sawulo. Olw'okulaga obunakuwavu, yali ayuzizza ebyambalo bye era nga yeesiize ettaka mu mutwe. N'agenda eri Dawudi, n'avuunama ng'amussaamu ekitiibwa. Dawudi n'amubuuza nti: “Ova wa?” N'addamu nti: “Nziruse mu lusiisira lw'Abayisirayeli.” Dawudi n'amugamba nti: “Mbuulira bwe byabadde.” N'amugamba nti: “Eggye lyaffe lidduse mu lutalo era abantu baffe bangi battiddwa. Sawulo ne mutabani we Yonataani bafudde.” Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti: “Omanyi otya nga Sawulo ne mutabani we Yonataani bafudde?” Omulenzi n'amuddamu nti: “Nabadde ku lusozi Gilubowa ne ndaba Sawulo nga yeewaniridde ku ffumu lye. Era ne ndaba ab'amagaali n'abeebagadde embalaasi, nga bamufumbiikiriza. Awo bwe yakyuse n'andaba, n'ampita, ne mpitaba nti: ‘Wangi ssebo.’ N'ambuuza nti: ‘Ggwe ani?’ Ne mmuddamu nti: ‘Ndi Mwamaleki.’ N'alyoka andagira nti: ‘Jjangu wano onzite! Ntuukiddwako ebisago bya maanyi, sijja kuwona.’ Awo ne ŋŋenda w'ali ne mmutta, kubanga nategeeredde ddala nti bw'anaagwa taaleme kufa. Ne mmuggyako engule ku mutwe n'ekikomo ku mukono, era ssebo biibino mbireese gy'oli.” Awo Dawudi n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne basajja be bonna ne bakola bwe batyo. Ne bakungubaga, ne bakaaba amaziga, ne batalya mmere olunaku lwonna, olw'okubeera Sawulo ne mutabani we Yonataani, n'olw'abantu ba Mukama Abayisirayeli kubanga battibwa mu lutalo. Dawudi n'abuuza omuvubuka eyamuleetera amawulire ago nti: “Ggwe oli wa wa?” N'amuddamu nti: “Ndi mwana wa Mwamaleki omutuuze.” Dawudi n'amubuuza nti: “Oyinza otya obutatya kuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako omuzigo?” Awo Dawudi n'ayita omu ku balenzi, n'amugamba nti: “Mutte!” Omuvubuka n'akuba Omwamaleki, n'amutta. Dawudi n'agamba Omwamaleki nti: “Kino ggwe okyereetedde, era weesalidde wekka omusango ng'ogamba nti: ‘Nze nzise oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.’ ” Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne mutabani we Yonataani mu luyimba olw'okukungubaga. N'alagira oluyimba olwo oluyitibwa Omutego luyigirizibwe abantu b'omu Buyudaaya, era luwandiikiddwa mu kitabo kya Yasari. “Abakuweesa ekitiibwa, ggwe Yisirayeli battiddwa ku busozi bwo! Abazira baffe bagudde! Temukibuulirako b'e Gaati, era temukirangirira mu nguudo z'e Asukelooni, sikulwa ng'abakazi Abafilistiya, bawala b'abatali bakomole, basanyuka ne bajaguza. “Mmwe ensozi ze Gilubowa, muleme kutonnyebwangako nkuba wadde omusulo, wadde okubaako ennimiro ezikungulwa, kubanga engabo z'abazira, ku mmwe kwe zisuuliddwa, n'engabo ya Sawulo tekyafukibwako muzigo. Akasaale ka Yonataani n'ekitala kya Sawulo byali tebitya wa maanyi, nga tebitaliza mulabe. “Sawulo ne Yonataani abaayagalana mu bulamu, tebaayawukana mu kufa. Banguwa okusinga empungu, ba maanyi okukira empologoma. “Abakazi Abayisirayeli mukungubagire Sawulo! Yabambaza engoye ennungi, n'abawunda ne zaabu. “Abalwanyi abazira bagudde battiddwa mu lutalo! Yonataani agalamidde gy'attiddwa mu nsozi. “Nkukaabira Yonataani muganda wange! Nga twali baamukwano nnyo. Okwagala kwe wanjagalamu kwali kwa kitalo nga kusinga okw'abakazi. “Abalwanyi ab'amaanyi bagudde. Ebyokulwanyisa byabwe bigudde awo ttayo.” Ebyo bwe byaggwa, Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Ŋŋende mbeere mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Mukama n'addamu nti: “Genda.” Dawudi n'abuuza nti: “Mu kibuga ki?” Mukama n'addamu nti: “Mu Heburooni.” Awo Dawudi n'agenda mu Heburooni wamu ne bakazi be bombi: Ahinowamu gwe yaggya e Yezireeli, ne Abigayili nnamwandu wa Nabali, ow'e Karumeeli. Dawudi n'atwala basajja be wamu n'abantu baabwe ne babeera mu bibuga ebyetoolodde Heburooni. Awo abasajja b'omu Kika kya Yuda ne bajja mu Heburooni, ne bafuka omuzigo ku Dawudi okuba kabaka waabwe. Ne babuulira Dawudi nti ab'omu Yabesi eky'omu Gileyaadi be baaziika Sawulo. Awo Dawudi n'abatumira ababaka ng'agamba nti: “Mukama abawe omukisa, olw'ekikolwa eky'ekisa kye mwakolera mukama wammwe Sawulo okumuziika. Era nno Mukama abakwatirwenga ekisa era abe wa mazima gye muli. Era nange ŋŋenda kubayisa bulungi olw'ekyo kye mwakola. Kale mugume era mube bazira, kubanga newaakubadde mukama wammwe Sawulo afudde, naye ab'omu Kika kya Yuda banfuseeko omuzigo okuba kabaka waabwe.” Abuneeri mutabani wa Neeri omuduumizi w'eggye lya Sawulo yali adduse ne mutabani wa Sawulo gwe bayita Yisiboseti, nga bagenze e Mahanayimu, emitala w'omugga Yorudaani. Eyo Abuneeri gye yafuulira Yisiboseti kabaka wa Gileyaadi, owa Abasuuri, owa Yezireeli, owa Efurayimu, owa Benyamiini era owa Yisirayeli yonna. Yisiboseti mutabani wa Sawulo yali aweza emyaka amakumi ana we yafuulirwa kabaka wa Yisirayeli, era yafugira emyaka ebiri. Naye ab'Ekika kya Yuda ne baagoberera Dawudi. Dawudi n'afugira mu Heburooni ab'Ekika kya Yuda okumala emyaka musanvu n'ekitundu. Awo Abuneeri mutabani wa Neeri, n'abaweereza ba Yisiboseti mutabani wa Sawulo, ne bava e Mahanayimu ne bagenda e Gibiyoni. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne babasisinkana ku kidiba ky'e Gibiyoni. Ebibinja byombi ne batuula, ekimu ku ludda olumu olw'ekidiba, n'ekirala ku ludda olulala. Abuneeri n'agamba Yowaabu nti: “Ka abavubuka bajje okuva ku buli ludda, balwanire mu maaso gaffe.” Yowaabu n'addamu nti: “Kale bajje.” Awo ne beesowolayo abavubuka kkumi na babiri aba Yisiboseti mutabani wa Sawulo ab'Ekika kya Benyamiini, n'abavubuka kkumi na babiri aba Dawudi. Buli omu n'akwata ow'oku ludda olulala ku mutwe, n'amufumita ekitala mu mbiriizi, ne bagwira wamu. Awo ekifo ekyo ekiri mu Gibiyoni kyebaava bakiyita, “Ennimiro y'Ebitala.” Awo olutalo olw'amaanyi ne lubalukawo ku lunaku olwo, basajja ba Dawudi ne bawangula Abuneeri n'Abayisirayeli. Batabani ba Zeruyiya abasatu: Yowaabu, Abisaayi, ne Asayeeli, nabo baaliyo. Asayeeli eyaddukanga embiro ng'empeewo, n'asituka n'awondera Abuneeri awatali kuwunjawunja. Abuneeri bwe yatunula emabega n'agamba nti: “Asayeeli ggwe wuuyo?” Asayeeli n'amuddamu nti: “Nze nzuuno.” Abuneeri n'agamba nti: “Lekera awo okumpondera! Kyukira ku mukono gwo ogwa ddyo oba ogwa kkono okwate omu ku bavubuka, weenyagire by'alina.” Naye Asayeeli n'ayongera bwongezi okumuwondera. Abuneeri n'addamu nate okugamba Asayeeli nti: “Lekera awo okumpondera! Lwaki ompaliriza okukutta? Nnaalabika ntya mu maaso ga muganda wo Yowaabu nga nkusse?” Naye Asayeeli era n'ayongera okumuwondera. Awo Abuneeri n'afumita Asayeeli omuwunda gw'effumu lye, ne limuyita mu lubuto ne ligguka emabega. Asayeeli n'agwa n'afiirawo amangwago. Awo buli muntu eyatuukanga mu kifo ekyo Asayeeli mwe yafiira ng'ayimirira. Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri. Awo enjuba ng'egolooba, ne batuuka ku lusozi lw'e Amma oluli mu maaso ga Giya, ku luguudo olugenda mu ddungu ly'e Gibiyoni. Awo Ababenyamiini ne bakuŋŋaanira awali Abuneeri, ne bongera okwenyweza nga bali wamu ku ntikko y'olusozi. Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'amugamba nti: “Tunaalwana kutuusa ddi? Tomanyi nga ku nkomerero tewali kirungi kinaavaamu, okuggyako obulumi obwereere? Tuli bannansi bannammwe, oliragira ddi basajja bo okukoma okutuwondera?” Yowaabu n'addamu nti: “Mu mazima ga Katonda omulamu, singa towanjaze, basajja bange babadde bakyakuwondera okutuusa enkeera.” Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere okulabula basajja be ne balekera awo okuwondera Abayisirayeli. Awo olutalo ne lulyoka luggwa. Abuneeri ne basajja be ne batambula ekiro kyonna nga bayita mu kiwonvu kya Yorudaani, ne basomoka Omugga Yorudaani, ne batambula mu budde obw'enkya bwonna ne bagguka nate e Mahanayimu. Awo Yowaabu bwe yakomawo ng'ava okuwondera Abuneeri, n'akuŋŋaanya basajja be bonna, n'asanga nga kubulako kkumi na mwenda nga tobaliddeemu Asayeeli. Abaweereza ba Dawudi batta ebikumi bisatu mu nkaaga ku ba Abuneeri, abasibuka mu Kika kya Benyamiini. Yowaabu ne basajja be, ne batwala omulambo gwa Asayeeli, ne baguziika ku kiggya ky'ewaabwe e Betilehemu. Yowaabu ne basajja be ne batambula ekiro kyonna, era obudde okukya nga batuuse mu Heburooni. Awo abawagira ab'ennyumba ya Sawulo ne balwanagananga n'abawagizi ba Dawudi okumala ekiseera kiwanvu. Dawudi ne yeeyongeranga okuba n'amaanyi, naye abalabe be ne beeyongeranga okunafuwa. Bano be batabani ba Dawudi be yazaalira mu Heburooni: Omubereberye ye Amunooni, nnyina nga ye Ahinowamu Omuyezireeli. Owookubiri ye Kileyaabu, nnyina nga ye Abigayili, nnamwandu wa Nabali Omukarumeeli. Owookusatu ye Abusaalomu, nnyina nga ye Maaka, muwala wa kabaka Talumayi ow'omu Gesuri. Owookuna ye Adoniya, nnyina nga ye Haggiti. Ow'okutaano ye Sefatiya, nnyina nga ye Abitaali. N'ow'omukaaga ye Yitireyaamu, nnyina nga ye Egula muka Dawudi. Abo be baazaalirwa Dawudi e Heburooni. Awo olwatuuka, abawagira ennyumba ya Sawulo nga bakyalwanagana n'abawagizi ba Dawudi, Abuneeri ne yeeyongera okuba ow'amaanyi mu b'oludda lwa Sawulo. Sawulo yalina omukazi erinnya lye Rizupa, muwala wa Aya. Awo Yisiboseti n'agamba Abuneeri nti: “Lwaki otwala muka kitange?” Ebyo Yisiboseti bye yayogera ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, era n'amukayukira ng'agamba nti: “Olowooza ndi muweereza wa ludda lwa Yuda? Okutuusa kati mbadde mpagira ab'oludda lwa Sawulo kitaawo, baganda be ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mikono gya Dawudi, naye n'onvunaana omusango ogwekuusa ku mukazi oyo! Nze Abuneeri, Katonda ankube era anzite bwe sirituukiriza ekyo Mukama kye yalayirira Dawudi nti aliggya obwakabaka ku b'ennyumba ya Sawulo, n'afuula Dawudi kabaka wa Yisirayeli ne Yuda, okuva ku Daani okutuuka e Beruseba!” Yisiboseti n'atayinza kwanukula Abuneeri kigambo kirala kubanga yamutya. Amangwago Abuneeri n'atuma ababaka eri Dawudi okumugamba nti: “Ani nnannyini nsi? Nze ŋŋamba nti: ‘Kola endagaano nange, nja kukuyamba okuzza Yisirayeli yonna ku ludda lwo.’ ” Dawudi n'amuddamu nti: “Kale, nja kulagaana naawe, singa onokkiriza okundeetera Mikali muwala wa Sawulo ng'ojja okundaba.” Awo Dawudi n'atuma ababaka eri Yisiboseti mutabani wa Sawulo ng'agamba nti: “Mpa mukazi wange Mikali gwe nasasulira ensusu ekikumi ez'Abafilistiya.” Awo Yisiboseti n'atumya Mikali, n'amuggya ku bba Palutiyeli mutabani wa Layisi. Palutiyeli n'agenda ng'akaaba, n'awondera Mikali okutuuka mu kibuga Bahurimu. Abuneeri n'agamba Palutiyeli nti: “Genda, ddayo eka.” Awo n'addayo. Awo Abuneeri n'ayogera n'abakulembeze ba Yisirayeli ng'agamba nti: “Mumaze ebbanga nga mwagala Dawudi afuuke kabaka wammwe. Kale kaakano mukituukirize, kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti: ‘Ŋŋenda kukozesa omuddu wange Dawudi okununula abantu bange Abayisirayeli mu mikono gy'Abafilistiya n'egy'abalabe baabwe bonna.’ ” Abuneeri era n'ayogera n'Ababenyamiini, n'alyoka agenda mu Heburooni okutegeeza Dawudi, Ababenyamiini n'Abayisirayeli bonna kye basazeewo okukola. Awo Abuneeri, ng'ali n'abasajja amakumi abiri, bwe yatuuka ewa Dawudi mu Heburooni, Dawudi n'abafumbira ekijjulo. Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti: “Nja kusituka ŋŋende nkuŋŋaanyize Abayisirayeli bonna gy'oli mukama wange kabaka, bakole naawe endagaano, olyoke ofuge bonna nga bwe wayagala.” Awo Dawudi n'asiibula Abuneeri, Abuneeri n'agenda mirembe. Mu kaseera ako, Yowaabu n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne bakomawo okuva mu kikwekweto nga bazze n'omunyago mungi. Kyokka baasanga Abuneeri takyali na Dawudi mu Heburooni, kubanga Dawudi yali amusiibudde, era Abuneeri ng'agenze mirembe. Awo Yowaabu bwe yatuuka awamu n'eggye lyonna eryali naye, ne bamubuulira nti Abuneeri mutabani wa Neeri, yazze ewa kabaka Dawudi era Dawudi n'amusiibula n'agenda mirembe. Awo Yowaabu n'agenda ewa kabaka Dawudi n'amugamba nti: “Okoze ki! Abuneeri okujja gy'oli n'omuleka n'agenda? Omanyi bulungi nga Abuneeri mutabani wa Neeri yazze kukulimbalimba amanye byonna by'okola n'amakubo g'okwata?” Awo Yowaabu bwe yava ewa Dawudi n'atuma ababaka bawondere Abuneeri, era ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwe Siira, naye kino Dawudi teyakimanya. Abuneeri bwe yakomawo mu Heburooni, Yowaabu n'amuzza ku bbali w'omulyango, n'aba ng'ayagala okumukuba akaama. Bwe baali bali awo, n'amufumita mu lubuto n'amutta, kubanga Abuneeri yali asse Asayeeli muganda we. Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, n'agamba nti: “Ennaku zonna mu maaso ga Mukama, nze n'ab'omu bwakabaka bwange tetuubengako musango ogw'okutta Abuneeri mutabani wa Neeri. Gubeerenga ku Yowaabu n'ab'ennyumba ya kitaawe yonna! Era mu buli mulembe gwonna, mu nnyumba ya Yowaabu mubengamu omulwadde w'enziku, oba ow'ebigenge, oba omulema, oba attirwa mu lutalo, oba abulwa emmere.” Yowaabu ne muganda we Abisaayi bwe batyo bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asayeeli mu lutalo lwe Gibiyoni. Awo Dawudi n'alagira Yowaabu ne basajja be bonna abaali naye, bayuze ebyambalo byabwe, bambale ebikutiya, bakungubagire Abuneeri. Kabaka Dawudi yennyini n'avaako emabega w'akatanda okusituliddwa omulambo nga bagenda okuguziika. Abuneeri n'aziikibwa mu Heburooni, kabaka n'atemera omulanga ku ntaana ya Abuneeri, n'akaaba amaziga, n'abantu bonna ne bakaaba. Kabaka n'akungubagira Abuneeri ng'agamba nti: “Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa? Emikono gyo tegyabadde misibe, n'ebigere byo tebyabadde mu masamba. Wafudde ng'omuntu attiddwa abantu ababi.” Abantu bonna ne baddamu okukaabira Abuneeri. Olunaku olwo lwonna abantu bonna ne beegayirira Dawudi alye ku mmere, kyokka ye n'alayira nti: “Katonda ankube nfe singa nkomba ku mmere oba ekyokulya kyonna ng'obudde tebunnaziba!” Kino abantu bonna ne bakitegeera, ne kibasanyusa. Era byonna kabaka Dawudi bye yakolanga, abantu baabisiimanga. Abantu ba Dawudi bonna n'abantu ba Yisirayeli bonna, ne bakitegeera ku lunaku olwo nti tekyava eri kabaka okutta Abuneeri, mutabani wa Neeri. Kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Temumanyi nti omukulembeze ow'amaanyi era oweekitiibwa mu Yisirayeli afudde olwaleero? Newaakubadde nga nafukibwako omuzigo okuba kabaka, olwaleero mpulira nga sirina maanyi. Batabani ba Zeruyiya bano bayitiridde okuba abakakanyavu gye ndi. Akoze ekibi ekyo, Mukama amusasule ekimugwanira.” Awo Yisiboseti mutabani wa Sawulo bwe yawulira nti Abuneeri bamuttidde mu Heburooni, n'atya nnyo, n'abantu b'omu Yisirayeli bonna ne beeraliikirira. Yisiboseti yalina abakungu be babiri, abaakuliranga entabaalo, ng'omu erinnya lye Baana, n'owookubiri nga ye Rekabu, batabani ba Rimmoni Omubeeroti, ow'omu Kika kya Benyamiini. (Beeroti kibalibwa mu kitundu kya Benyamiini. Abatuuze abaasooka okukibeeramu baali baddukidde mu Gittayiimu, gye babeera n'okutuusa kati). Yonataani mutabani wa Sawulo yalina mutabani we eyalemala amagulu, erinnya lye Mefiboseti. Omwana oyo yalina emyaka etaano egy'obukulu Sawulo ne Yonataani we baafiira. Omuntu bwe yava e Yezireeli n'abika Sawulo ne Yonataani, omulezi w'omwana oyo Mefiboseti n'amusitula n'adduka. Naye olw'okuba yali mu bwangu, omwana yamusimattukako n'agwa n'alemala. Awo Rekabu ne Baana batabani ba Rimmoni Omubeeroti ne bagenda, ne batuuka mu nnyumba ya Yisiboseti ku ssaawa nga mukaaga ez'omu ttuntu, ne basanga nga Yisiboseti awumuddeko. Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Rekabu ne muganda we Baana ne badduka. Baayingira mu nnyumba nga Yisiboseti yeebase ku kitanda mu kisenge mw'asula, ne bamufumita, ne bamutta. Ne bamutemako omutwe, ne bagutwala. Ne batambula ekiro kyonna, nga bayita mu kiwonvu kya Yorudaani. Omutwe gwa Yisiboseti ne bagutwalira Dawudi mu Heburooni, ne bamugamba nti: “Omutwe gwa Yisiboseti mutabani w'omulabe wo Sawulo, eyali agezaako okukutta, guuguno! Olwaleero Mukama awooledde eggwanga ku lulwo ku Sawulo ne ku zzadde lye.” Dawudi n'abaddamu nti: “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna! Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka namukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye namuwa olw'amawulire ge ago! Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Siisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Yisiboseti, ne mbasaanyaawo ku nsi kuno?” Dawudi n'alagira balenzi be, ne batta Rekabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba ky'omu Heburooni. Ne batwala omutwe gwa Yisiboseti, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri mu Heburooni. Awo ab'omu Bika bya Yisirayeli byonna ne bajja eri Dawudi mu Heburooni ne bamugamba nti: “Tuli baaluganda era ba musaayi gumu naawe. Mu biro eby'edda Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Abayisirayeli mu ntabaalo. Mukama n'akugamba nti: ‘Ggwe onookulemberanga abantu bange Abayisirayeli, era ggwe onoobanga omufuzi wa Yisirayeli.’ ” Awo abakulembeze ba Yisirayeli bonna ne bajja mu Heburooni eri kabaka. Dawudi n'akolerayo nabo endagaano mu maaso ga Mukama, ne bamufukako omuzigo, n'afuuka kabaka wa Yisirayeli. Dawudi we yafuukira kabaka wa Yisirayeli, yali aweza emyaka amakumi asatu, n'afuga Yisirayeli emyaka amakumi ana. Mu Heburooni n'afugirayo Yuda emyaka musanvu n'emyezi mukaaga, ate mu Yerusaalemu n'afugirayo Yisirayeli yonna ne Yuda emyaka amakumi asatu mu esatu. Awo kabaka ne basajja be ne bagenda e Yerusaalemu okulwanyisa Abayebusi abatuuze baayo. Abayebusi abo ne balowooza nti Dawudi tayinza kuwangula n'ayingira kibuga ekyo. Kyebaava bamugamba nti: “Toliyingira mu kibuga kino kubanga ne bamuzibe n'abalema basobola okukuziyiza.” Kyokka Dawudi n'awamba ekigo ky'e Siyooni, ne kifuuka Ekibuga kya Dawudi. Ku lunaku olwo Dawudi n'agamba basajja be nti: “Buli ayagala okutta Abayebusi, ayambukire mu mukutu gw'amazzi atte bamuzibe n'abalema abo Dawudi b'akyawa.” Kyebava bagamba nti: “Bamuzibe n'abalema tebayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama.” Dawudi bwe yamala okuwamba ekigo, n'akibeeramu era n'akituuma erinnya: “Ekibuga kya Dawudi.” N'azimba mu kifo ekyo okwetoolooza, ng'atandikira mu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo, n'okudda munda. Dawudi ne yeeyongeranga okuba omukulu, kubanga Mukama Katonda Nnannyinimagye yali wamu naye. Awo Hiraamu kabaka w'e Tiiro n'atumira Dawudi ababaka, n'amuweereza emiti egy'emivule, n'ababazzi, n'abazimbi b'amayinja bazimbire Dawudi olubiri. Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Yisirayeli, era ng'agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Abayisirayeli. Awo Dawudi bwe yamala okuva mu Heburooni n'abeerera ddala mu Yerusaalemu, ne yeeyongera okuwasa abakazi. N'azaala abaana abalala bangi ab'obulenzi n'ab'obuwala. Gano ge mannya g'abaana, be yazaalira mu Yerusaalemu: Sammuwa, ne Sobabu, ne Natani, ne Solomooni, ne Yibari, ne Elisuuwa, ne Nefegi, ne Yafiya ne Elisaama ne Eliyaada ne Elifeleti. Abafilistiya bwe baawulira nti Dawudi afukiddwako omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli, bonna ne bagenda bamuyigge. Dawudi bwe yakiwulira, ne yeekweka mu mpuku. Abafilistiya ne batuuka mu kiwonvu ky'e Refayiimu ne bakibuna kyonna. Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Ŋŋende nnumbe Abafilistiya? Ononsobozesa okubawangula?” Mukama n'addamu nti: “Genda. Ddala nja kukusobozesa okubawangula.” Awo Dawudi n'agenda e Baali-Peraziimu n'awangulirayo Abafilistiya, n'agamba nti: “Mukama amenye abalabe bange, ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gumenya embibiro.” Ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Baali-Peraziimu. Abafilistiya bwe badduka, baalekayo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi ne basajja be ne babitwala. Awo Abafilistiya ne bakomawo nate ne babuna mu kiwonvu kye Refayiimu. Era Dawudi n'addamu okubuuza Mukama. Mukama n'amuddamu nti: “Tobalumbira wano. Weetooloole odde emabega waabwe, obalumbe ng'osinziira mu maaso g'emitugunda. Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka obalumba kubanga nze Mukama nnaaba nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafilistiya.” Dawudi n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'agenda ng'atta Abafilistiya okuva e Geba okutuuka e Gezeri. Awo Dawudi n'akuŋŋaanya wamu nate abasajja bonna abaalondebwa mu Yisirayeli, abawerera ddala emitwalo esatu. N'abakulembera okugenda e Baale eky'omu kitundu kya Yuda okuggyayo Ssanduuko ya Katonda ey'Endagaano, eyitibwa erinnya lya Mukama Nnannyinimagye atuula ku ntebe y'obwakabaka waggulu wa Bakerubi. Ssanduuko ya Katonda ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadabu eyali ku lusozi, ne bagiteeka ku kigaali ekiggya. Batabani ba Abinadabu, Wuzza ne Ahiyo, ne bavuga ekigaali ekiggya ekiriko Ssanduuko ya Mukama, nga Ahiyo akulembeddemu. Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne bazina mu maaso ga Mukama nga bakuba ebivuga eby'emiti emiberosi ebya buli ngeri, n'ennanga n'entongooli, n'eŋŋoma n'ebitaasa n'ensaasi. Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Wuzza n'agolola omukono gwe n'akwata Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, kubanga ente zaabulako katono okugisuula wansi. Mukama n'asunguwalira Wuzza, n'amuttirawo, kubanga yeeyitiriza n'akwata ku Ssanduuko Ey'Endagaano. Wuzza n'afiira awo awali Ssanduuko ya Katonda. Dawudi n'anyiiga kubanga Mukama yabonereza Wuzza n'obusungu. Okuva olwo ekifo ekyo ne kiyitibwa Perezuzza. Ku lunaku olwo Dawudi n'atya Mukama, n'agamba nti: “Nnaatwala ntya Ssanduuko ya Mukama ey'Endagaano?” Dawudi n'agaana okutwala Ssanduuko ya Mukama mu kibuga kye wabula, n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. Ssanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu, Mukama n'awa omukisa Obededomu Omugitti n'ab'omu nnyumba ye bonna. Awo ne babuulira kabaka Dawudi nti: “Mukama awadde omukisa ab'omu nnyumba ya Obededomu n'ebibye byonna olw'Essanduuko ya Katonda.” Dawudi n'agenda n'aggyayo Ssanduuko ya Mukama ey'Endagaano mu nnyumba ya Obededomu, n'agitwala mu kibuga kye ng'asanyuka. Abaasitula Essanduuko ya Mukama bwe baali batambuddeko ebigere nga mukaaga, Dawudi n'atambira eri Mukama ente ennume n'ennyana ensava. Dawudi n'azina n'amaanyi ge gonna mu maaso ga Mukama nga yeesibye efodi enjeru. Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne batwala Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama mu Yerusaalemu, nga baleekaana olw'essanyu era nga bafuuwa amakondeere. Awo olwatuuka Essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama. N'amunyooma mu mutima gwe. Ne bayingiza Essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo, wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde. Dawudi n'awaayo eri Mukama ebitambiro ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'okutabagana. Bwe yamala okuwaayo ebitambiro, n'awa abantu omukisa mu linnya lya Mukama Nnannyinimagye. N'agabula abantu bonna ebyokulya. Buli musajja n'omukazi ow'omu Yisirayeli n'afuna omugaati, n'omugabo gw'ennyama, n'ekitole eky'ebibala by'emizabbibu ebikaze. Awo buli muntu n'addayo ewuwe. Awo Dawudi bwe yaddayo ewuwe okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa, Mikali n'afuluma okumusisinkana n'agamba nti: “Kabaka wa Yisirayeli ng'abadde wa kitiibwa olwaleero! Okweyisa ng'omusajja omugwenyufu bwe yeeyisa, n'atambula nga yeeyambudde mu maaso g'abazaana b'abaweereza be!” Dawudi n'addamu Mikali nti: “Mbadde nzinira mu maaso ga Mukama eyannonda n'ansukkulumya ku kitaawo n'ab'ennyumba ye yonna, okuba omukulembeze w'abantu be Abayisirayeli. Era kyennaavanga nzinira mu maaso ga Mukama, ne nneeyongera okwemalamu ekitiibwa n'okusingawo, mbe anyoomebwa mu maaso gange, naye abazaana abo b'oyogeddeko balinzisaamu ekitiibwa.” Mikali, muwala wa Sawulo n'atazaala mwana n'omu obulamu bwe bwonna. Awo olwatuuka Dawudi n'akkalira mu lubiri lwe, era Mukama n'amuwonya okutawaanyizibwa abalabe be bonna abamwetoolodde. Dawudi n'agamba omulanzi Natani nti: “Laba nze nsula mu nnyumba ey'emivule, naye Essanduuko ya Katonda ebeera mu weema!” Awo Natani n'agamba kabaka nti: “Genda okole ekikuli ku mutima, kubanga Mukama ali wamu naawe.” Naye ekiro ekyo Mukama n'agamba Natani nti: “Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti: ‘Mukama agamba nti: Si ggwe ogenda okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga. Okuviira ddala ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu Misiri n'okutuusa kati, sibeerangako mu nnyumba, wabula natambuliranga mu weema. Mu bifo byonna mwe natambulira n'Abayisirayeli bonna, ssaabuuzaako kika na kimu ekya Yisirayeli kye nalonda okulabirira abantu bange Abayisirayeli nti lwaki tebanzimbira nnyumba ya mivule.’ “Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti: Nze Mukama Nnannyinimagye mmugamba nti: ‘Nakuggya ku gw'okulundanga endiga mu ttale, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli. Era nabanga naawe buli gye wagendanga yonna, ne nsaanyaawo abalabe bo bonna ng'olaba. Era ndikufuula wa ttutumu ng'abafuzi abatutumufu ennyo mu nsi. Ntegekedde abantu bange Abayisirayeli ekifo, ne mbateekamu, babeerenga omwo nga kyabwe, balemenga kuddamu kutawaanyizibwa, era ng'abantu ababi tebakyababonyaabonya nga bwe gwali we nateekerawo abalamuzi okufuganga abantu bange Abayisirayeli. Era ndikuwonya okutawaanyizibwa abalabe bo bonna. N'ekirala Nze Mukama nkugamba nti: ndikwaliza ezzadde. Ennaku zo bwe ziriggwaako, n'ogenda eri bajjajjaabo, omu ku baana bo be weezaalira, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe. Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey'obwakabaka emirembe gyonna. Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anaakolanga ekitali kituufu, nnaamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we, kyokka siirekengayo kumukwatirwa kisa, nga bwe nalekayo okukikwatirwa Sawulo, gwe naggyawo, ggwe olyoke ofuuke kabaka. Ezzadde lyo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira emirembe gyonna, mu maaso gange, n'entebe yo ey'obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.’ ” Awo Natani n'abuulira Dawudi byonna nga Mukama bwe yabimugamba, era nga bwe yabimulaga. Awo kabaka Dawudi n'ayingira mu Weema, n'atuula mu maaso ga Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nze n'ab'ennyumba yange tetusaanidde bino byonna bye wankolera. Naye n'ekyo, ayi Mukama Katonda, kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubizza bingi ezzadde lyange ery'omu maaso. Kale ekyo okimanyisa omuntu, ayi Mukama Katonda! Ate kiki ekirala nze Dawudi kye nnyinza okukugamba? Ommanyi nze omuweereza wo Ayi Mukama Katonda. Okoze ekintu kikulu okumanyisa nze omuweereza wo, ekyo ky'osuubiza ng'okiggya mu mutima gwo. N'olwekyo oli mukulu, ayi Mukama Katonda! Tetuwulirangako nga waliwo akwenkana, era oba nti waliwo Katonda omulala okuggyako ggwe. Era ggwanga ki eddala ku nsi eriri ng'ery'abantu bo Abayisirayeli, ggwe Katonda be wanunula okuba abantu bo! Ebintu ebikulu n'ebyewuunyo bye wabakolera, byayatiikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne balubaale baabwe, ne basegulira abantu be weenunulira okuva e Misiri. Abayisirayeli wabafuula abantu bo emirembe gyonna, era naawe Mukama n'ofuuka Katonda waabwe. “Era kaakano, ayi Mukama Katonda, nywezanga ennaku zonna ky'osuubizza nze omuweereza wo n'ab'ennyumba yange, era okole nga bw'ogambye. Ogulumizibwe emirembe gyonna, nga bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye ye Katonda afuga Yisirayeli.’ Era onyweze ab'ennyumba yange emirembe gyonna, Ayi Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nze omuweereza wo ŋŋumye okukusinza bwe nti, kubanga ombikkulidde bino byonna, n'oŋŋamba nti bazzukulu bange olibafuula bakabaka. “Era kaakano, Mukama, Afugabyonna, ggwe Katonda; ebigambo byo bya mazima, era osuubizza nze omuweereza wo ebintu ebirungi. Nkusaba owe omukisa ab'ennyumba yange nze omuweereza wo, balyoke beeyongere okuganja mu maaso go ennaku zonna. Ayi Mukama Katonda, ab'ennyumba yange obawenga omukisa gwo emirembe gyonna, kubanga kino ggwe okisuubizza.” Ebyo bwe byaggwa, Dawudi n'alwanyisa Abafilistiya n'abawangula, era n'abawambako Ekibuga Metegamma. Awo n'awangula Abamowaabu, n'abagalamiza wansi mu nnyiriri ssatu, n'attako ennyiriri bbiri n'alekawo lumu. Awo Abamowaabu ne baba abaweereza ba Dawudi ne bamuwanga emisolo. Dawudi era n'awangula ne Hadadezeri mutabani wa Rehobu kabaka w'e Zoba, Hadadezeri oyo bwe yali ng'agenda okujeemulula amatwale ge engulu w'Omugga Ewufuraate. Dawudi n'amuwambako abaserikale lukumi mu lusanvu abeebagala embalaasi, n'abalala emitwalo ebiri ab'ebigere. Embalaasi zonna ezisika amagaali, Dawudi n'azitema enteega, okuggyako ezo zokka ezimala okusika amagaali ge ekikumi. Ezo ze yalekawo. Abasiriya ab'e Damasiko bwe bajja okudduukirira Hadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'abattamu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri. Dawudi n'ateeka enkambi z'abaserikale mu Aramu eky'omu Damasiko, Abasiriya ne bafuuka abaddu be, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga. Dawudi n'anyaga engabo za zaabu abaweereza ba Hadadezeri ze baalina, n'azitwala e Yerusaalemu. N'aggya ekikomo kingi mu bibuga Beeta ne Berotayi ebyafugibwanga Hadadezeri. Toyi kabaka we Hamati bwe yawulira nti Dawudi awangudde eggye lya Hadadezeri lyonna, n'atuma mutabani we Yoraamu eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumukulisa okuwangula Hadadezeri, kubanga Hadadezeri yali mulabe wa Toyi. Yoraamu oyo n'aleetera Dawudi ebirabo ebya ffeeza, n'ebya zaabu, n'ekikomo. N'ebyo Kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu bye yawonga ng'abiggye mu mawanga gonna ge yawamba: erya Siriya, Mowaabu, Ammoni, Filistiya, ne Amaleki, ne ku munyago gwe yaggya ku Hadadezeri, mutabani wa Rehobu, kabaka w'e Zoba. Dawudi n'ayatiikirira bwe yakomawo ng'amaze okutta Abassiriya omutwalo gumu mu kanaana, mu Kiwonvu eky'Omunnyo. N'ateeka enkambi z'abaserikale wonna mu Edomu, ab'omu Edomu ne bafuuka baddu be. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga. Dawudi n'akulembera Yisirayeli yonna, era n'afuganga abantu be mu mazima n'obwenkanya. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w'eggye ow'oku ntikko, Yehosafaati mutabani wa Ahiluudi, ye yawandiikanga ebyabangawo. Zaddooki mutabani wa Ahituubu ne Ahimeleki mutabani wa Abiyataari, be baali bakabona. Seraya ye yali omuwandiisi. Benaaya mutabani wa Yehoyaada, ye yali akulira abakuumi ba Dawudi Abakereti n'Abapeleti. Bo batabani ba Dawudi baali bawi ba magezi. Awo Dawudi n'abuuza nti: “Mu nnyumba ya Sawulo waliwo omuntu eyasigalawo, mmukolere eby'ekisa ku lwa Yonataani?” Waaliwo omuweereza ow'omu nnyumba ya Sawulo erinnya lye Ziba, ne bamuyita okugenda eri Dawudi. Kabaka n'amubuuza nti: “Ggwe Ziba?” N'amuddamu nti: “Nze wuuyo omuweereza wo.” Kabaka n'amubuuza nti: “Waliwo omuntu eyasigalawo mu nnyumba ya Sawulo, mmulage ekisa kya Katonda?” Ziba n'addamu kabaka nti: “Wakyaliyo mutabani wa Yonataani eyalemala amagulu.” Kabaka n'amubuuza nti: “Ali ludda wa?” Ziba n'amuddamu nti: “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'omu Lodebari.” Awo kabaka Dawudi n'atumya Mefiboseti, ne bamuleeta nga bamuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'e Lodebari. Awo Mefiboseti mutabani wa Yonataani era muzzukulu wa Sawulo, n'ajja eri Dawudi, n'avuunama ku ttaka ne yeeyanza. Dawudi n'amugamba nti: “Totya. Nja kukukolera eby'ekisa ku lwa kitaawo Yonataani. Ndikuddiza ettaka lyonna erya jjajjaawo Sawulo, era onooliiranga wamu nange ku lujjuliro.” Mefiboseti ne yeeyanza, n'agamba nti: “Nze ani omuweereza wo, nze ani gw'olowoozaako, nze ali ng'embwa efudde!” Awo kabaka n'ayita Ziba omuweereza wa Sawulo, n'amugamba nti: “Ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n'ab'omu nnyumba ye, mbiwadde muzzukulu wa mukama wo oyo Sawulo. Ggwe, ne batabani bo, n'abaweereza bo, munaalimiranga ab'omu nnyumba ya mukama wo oyo ennimiro, mubatwalirenga bye mukungudde, bafune bye balya. Kyokka ye Mefiboseti yennyini, anaaliiranga wamu nange ku lujjuliro.” Ziba yalina batabani be kkumi na bataano, n'abaweereza amakumi abiri. Ziba n'agamba kabaka nti: “Mukama wange nja kukola byonna by'ondagidde.” Awo kabaka n'agamba nti: “Mefiboseti, anaaliiranga ku lujjuliro lwange, ng'omu ku batabani ba kabaka.” Mefiboseti yalina mutabani we omuto erinnya lye Mikka. Era abo bonna abaabeeranga mu nnyumba ya Ziba, ne bafuuka baweereza ba Mefiboseti. Awo Mefiboseti eyali alwadde amagulu gombi, n'abeera mu Yerusaalemu, n'aliiranga ku lujjuliro lwa kabaka. Awo Kabaka Nahasi ow'Abammoni n'afa, mutabani we Hanuni n'amusikira ku bwakabaka. Dawudi n'agamba nti “Ŋŋenda okulaga Hanuni mutabani wa Nahasi ekisa nga kitaawe bwe yandaga ekisa.” Dawudi n'amutumira abaweereza be okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaweereza ba Dawudi ne batuuka mu nsi y'Abammoni. Kyokka abakulembeze b'omu Ammoni ne bagamba mukama waabwe Hanuni nti: “Olowooza Dawudi okukutumira abaweereza bakukubagize, ddala aba assaamu kitaawo kitiibwa? Dawudi asindise bakessi bakette ekibuga era bakiwambe.” Hanuni n'akwata abaweereza ba Dawudi, buli omu n'amumwako ekirevu oludda olumu, n'abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma mu biwato byabwe, n'abasiibula. Dawudi ekyo bwe baakimubuulira, n'abatumira abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti: “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.” Awo Abammoni ne balaba nga beekyayisizza Dawudi. Kyebaava batumira Abasiriya ab'e Betirehobu n'e Zoba, okubagulirira babawe abaserikale emitwalo ebiri ab'ebigere, ne Kabaka Maaka aleete abasajja lukumi, n'ab'e Tobu baleete abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri. Dawudi bwe yakiwulira, n'aweereza Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi. Abammoni ne bafuluma ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu. Ate bo Abasiriya abaava e Zoba n'e Rehobu, n'abasajja abaava e Tobu n'aba Maaka, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale. Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Yisirayeli abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasiriya. Basajja be abaasigalawo n'abakwasa muganda we Abisaayi, n'abategeka okwolekera Abammoni. Yowaabu n'agamba Abisaayi nti: “Abasiriya bwe banansinza amaanyi onojja n'onnyamba, naawe Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, najja ne nkuyamba. Ddamu amaanyi, tulwane masajja ku lw'abantu baffe n'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.” Yowaabu ne basajja be ne basembera okulwanyisa Abassiriya, Abasiriya ne badduka. Abammoni bwe baalaba ng'Abassiriya badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku kulwanyisa Abammoni, n'agenda e Yerusaalemu. Abasiriya bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne beekuŋŋaanya wamu. Kabaka Hadadezeri n'atumya era n'aggyayo Abasiriya abaali ebuvanjuba w'Omugga Ewufuraate, ne bajja mu Eramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi w'eggye lya Hadadezeri. Dawudi bwe baamubuulira, n'akuŋŋaanya eggye lya Yisirayeli lyonna, n'asomoka Omugga Yorudaani, n'ajja mu Eramu. Abasiriya ne beetegeka okwolekera Dawudi ne bamulwanyisa. Abasiriya ne badduka Abayisirayeli. Dawudi ne basajja be ne batta Abasiriya lusanvu abavuzi b'amagaali, n'abasajja emitwalo ena abeebagala embalaasi, n'afumita Sobaki omuduumizi w'eggye lyabwe, n'afiira mu ddwaniro. Bakabaka bonna abaaweerezanga Hadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne bakola endagaano ey'emirembe n'Abayisirayeli, ne bafuuka baweereza baabwe. Awo Abasiriya ne batya okuyamba Abammoni omulundi omulala. Mu biseera eby'omwaka bakabaka mwe batabaalira, Dawudi n'asindika Yowaabu n'abaweereza be, n'Abayisirayeli bonna, ne bazikiriza Abammoni era ne bazingiza ekibuga Rabba. Kyokka ye Dawudi n'asigala mu Yerusaalemu. Lwali lumu olwegguloggulo, kabaka Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye, n'atambulatambula waggulu ku nnyumba ye. Ng'ali eyo, n'alengera omukazi ng'anaaba. Omukazi yali mulungi nnyo. Awo Dawudi n'atuma ababaka babuulirize ebimufaako. Ne wabaawo amugamba nti: “Oyo ye Batuseba, muwala wa Eliyaamu, era muka Wuriya Omuhiiti.” Awo Dawudi n'atuma ababaka bamunone, omukazi n'ajja gy'ali ne yeebaka naye. Omukazi yali yaakava mu nsonga z'abakyala eza buli mwezi. Awo omukazi n'addayo ewuwe. Omukazi n'aba olubuto n'atuma, babuulire Dawudi, ng'agamba nti: “Ndi lubuto.” Awo Dawudi n'atumira Yowaabu nti: “Mpeereza Wuriya Omuhiiti.” Yowaabu n'aweereza Wuriya eri Dawudi. Awo Wuriya bwe yatuuka eri Dawudi, Dawudi n'amubuuza nga Yowaabu n'abantu be bwe bali, era n'olutalo nga bwe luli. Awo Dawudi n'agamba Wuriya nti: “Kale genda ewuwo, owummuleko.” Wuriya n'ava mu lubiri lwa kabaka. Kabaka n'amugobereza ekirabo. Kyokka Wuriya ewuwe teyagendayo, yasula ku mulyango gwa lubiri wamu n'abaweereza bonna aba mukama we. Awo Dawudi bwe baamubuulira nti: “Wuriya ewuwe teyagenzeeyo, ye kwe kubuuza Wuriya nti: ‘Tewavudde mu lugendo? Lwaki tewazzeeyo wuwo?’ ” Wuriya n'agamba Dawudi nti: “Essanduuko ey'Endagaano, n'abasajja aba Yisirayeli n'aba Yuda basula mu nsiisira, ne mukama wange Yowaabu n'abaweereza be basiisidde ku ttale mu bbanga. Kale nnyinza ntya nze okugenda ewange ne ndya, ne nnywa, ne neebaka ne mukazi wange? Ndayidde ggwe, n'obulamu bwo, siyinza kukola kintu ekyo.” Awo Dawudi n'agamba Wuriya nti: “Yosa olwaleero enkya nja kukusindika oddeyo.” Wuriya n'abeera mu Yerusaalemu olunaku olwo n'olwaddirira. Awo Dawudi n'amuyita n'alya era n'anywa naye, n'amutamiiza. Kyokka n'ekiro ekyo Wuriya ewuwe teyagendayo. Yasula ku kitanda kye wamu n'abaweereza ba mukama we. Enkeera mu makya Dawudi n'awandiikira Yowaabu ebbaluwa, n'agiwa Wuriya agitwale. N'awandiika mu bbaluwa eyo bw'ati: “Teeka Wuriya ku mwanjo awali okulwana okw'amaanyi ennyo, omwabulire, bamufumite, afe.” Awo Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'ateeka Wuriya mu kifo we yamanya nti abalabe we basinga amaanyi. Awo abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwanyisa Yowaabu. Ne batta abamu ku baweereza ba Dawudi, Wuriya Omuhiiti naye ne bamuttiramu. Awo Yowaabu n'atuma, n'abuulira Dawudi amawulire gonna agafa ku lutalo, n'akuutira gwe yatuma ng'agamba nti: “Bw'onoomala okubuulira kabaka amawulire gonna agafa ku lutalo, kabaka n'asunguwala, n'akubuuza nti: ‘Lwaki mwasemberera nnyo ekibuga okulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku bisenge? Ani eyatta Abimeleki mutabani wa Yerubbesiti? Omukazi teyamusuulako olubengo ng'asinziira ku kisenge n'afiira e Tebezi? Lwaki mwasemberera okumpi n'ekisenge?’ Onoddamu nti: ‘N'omuweereza wo Wuriya Omuhiiti naye afudde.’ ” Omubaka n'agenda. N'ajja n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma. Omubaka n'agamba Dawudi nti: “Abalabe baatusinza amaanyi ne bafuluma ekibuga okutulwanyisa mu ttale, naye ne tubazzaayo okutuuka ku mulyango gw'ekibuga. Abasajja ab'obusaale ne balasa abaweereza bo, nga basinziira ku kisenge, era abamu ku baweereza bo, ayi kabaka, bafudde. N'omuweereza wo Wuriya Omuhiiti naye afudde.” Awo Dawudi n'agamba omubaka nti: “Bw'oti bw'oba ogamba Yowaabu nti: ‘Ekyo kireme kukuterebula, kubanga tewali ayinza kumanya oyo anaafiira mu lutalo. Kale nno weeyongere okulumba ekibuga n'amaanyi, okiwambe.’ Era naawe mugumye omwoyo.” Awo muka Wuriya bwe yawulira nga bba afudde, n'amukungubagira. Ekiseera eky'okukungubaga bwe kyaggwaako, Dawudi n'amutumya n'amuleeta mu nnyumba ye, n'aba mukazi we era n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Kyokka ekintu ekyo Dawudi kye yakola, ne kinyiiza Mukama. Awo Mukama n'atuma Natani eri Dawudi. Natani n'agenda gy'ali n'amugamba nti: “Waaliwo abantu babiri mu kibuga ekimu. Omu yali mugagga, omulala nga mwavu. Omugagga yalina endiga n'ente nnyingi nnyo. Naye omwavu teyalina kantu, okuggyako akaana k'endiga akaluusi ke yagula nga kato, n'akalabirira, ne kakulira mu maka ge wamu n'abaana be. Kaalyanga ku kamere ke, ne kanywa ku kikopo kye, n'akaleranga, nga kali ng'omwana we ow'obuwala. Awo olwatuuka ew'omugagga ne wajja omugenyi eyali yeetambulira eŋŋendo ze. Omugagga n'atayagala kutta emu ku ndiga ze oba ku nte ze afumbire omutambuze oyo azze gy'ali, naye n'akwata omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omuntu oyo azze gy'ali”. Dawudi n'asunguwalira nnyo omuntu oyo. N'agamba Natani nti: “Ndayira Katonda omulamu, nti omuntu eyakola ekyo asaanira kufa! Era omwana gw'endiga ogwo aguliwemu endiga nnya, kubanga ekyo kye yakola yakikola nga talina kusaasira.” Natani n'agamba Dawudi nti: “Omuntu oyo, ye ggwe. Era bw'ati Mukama Katonda wa Yisirayeli bw'agamba nti: ‘Nakufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli, ne nkuggya mu mikono gya Sawulo, ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi be ne mbakuwa babe babo, ne nkuwa abantu ab'omu nnyumba ya Yisirayeli n'ab'omu ya Yuda. Era singa ebyo bibadde bitono nnyo, nandikwongedde n'ebirala ebisingawo. Kale lwaki onyoomye ekigambo kya Mukama n'okola ebibi mu maaso ge? Watta Wuriya Omuhiiti, Abammoni gwe battira mu lutalo, n'otwala mukazi we okuba mukazi wo. Kale nno olutalo teruubulenga mu nnyumba yo ennaku zonna, kubanga onnyoomye, n'otwala muka Wuriya Omuhiiti okuba mukazi wo.’ Mukama agamba nti: ‘Laba, ndireeta akabi mu nnyumba yo, ntwale bakazi bo ng'olaba, mbawe musajja munno yeebake nabo emisana ttuku. Ggwe wakikola mu kyama, naye nze ekyo ndikikola ng'Abayisirayeli bonna balaba, era ng'enjuba eyaka.’ ” Awo Dawudi n'agamba Natani nti: “Nkoze ekibi ne nnyiiza Mukama.” Natani n'agamba Dawudi nti: “Mukama naye aggyeewo ekibi kyo, toofe. Wabula nga bw'owadde abalabe ba Mukama omwagaanya omunene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa ajja kufa.” Natani n'addayo ewuwe. Awo Mukama n'alwaza omwana, muka Wuriya gwe yazaalira Dawudi, omwana oyo n'alwala nnyo. Dawudi kyeyava asabira omwana eri Katonda, Dawudi n'atabaako k'alya. N'ayingira mu nnyumba, n'amala ekiro kyonna ng'agalamidde wansi. Abakungu be ab'omu lubiri, ne bajja w'ali, bamuyimuse ave wansi, n'agaana era n'atakkiriza kulya nabo. Ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaweereza ba Dawudi ne batya okumubuulira nti omwana afudde, kubanga baagamba nti: “Omwana ng'akyali mulamu Dawudi twayogera naye n'agaana okuwuliriza kye tumugamba, kale tunaamugamba tutya nti omwana afudde! Taanakuwale nnyo?” Kyokka Dawudi bwe yalaba ng'abaweereza be boogera mu bwama, n'ategeera nti omwana afudde. Awo Dawudi n'ababuuza nti: “Omwana afudde?” Ne bamuddamu nti: “Afudde.” Awo Dawudi n'ava wansi, n'anaaba, ne yeesiiga omuzigo, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'agenda mu Ssinzizo, n'asinza. Awo n'alyoka addayo mu nnyumba ye, n'asaba emmere, ne bagimuleetera n'alya. Awo abaweereza be ne bamugamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana wo nga tannafa, naye omwana bw'afudde ogolokose n'olya emmere.” Dawudi n'abaddamu nti: “Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba, kubanga nalowooza nti oboolyawo Mukama ayinza okunkwatirwa ekisa, omwana n'atafa. Naye kaakano ng'amaze okufa, kiki ekinsiibya? Nkyasobola okumuzza? Nze ndigenda gy'ali, wabula ye takyadda gye ndi.” Awo Dawudi n'akubagiza mukazi we Batuseba. N'agenda gy'ali ne yeebaka naye, n'azaala omwana ow'obulenzi, Dawudi n'amutuuma erinnya Solomooni. Mukama n'ayagala nnyo omwana, era n'alagira omulanzi Natani omwana amutuume erinnya Yedidiya, kubanga Mukama yamwagala. Awo Yowaabu n'alumba Rabba, ekibuga ekikulu eky'Abammoni, n'akiwamba. Yowaabu n'atuma ababaka eri Dawudi, n'amugamba nti: “Nnumbye Rabba ne mpamba ekifo ekirimu amazzi. Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okiwambe, sikulwa nga nze nkiwamba ne kiyitibwa erinnya lyange.” Awo Dawudi n'akuŋŋaanya wamu abantu bonna n'agenda e Rabba, n'akirwanyisa, n'akiwamba. Dawudi n'aggya engule ku mutwe gwa kabaka waabwe, n'agiteeka ku mutwe gwe. Engule eyo yali ya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, ng'ezitowa kilo nga amakumi asatu mu ttaano. Dawudi n'anyaga n'ebitundu ebirala bingi nnyo mu kibuga. Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi, era n'abakozesa mu kwokya amatoffaali. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abammoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemu. Abusaalomu mutabani wa Dawudi, yalina mwannyina omulungi ennyo erinnya lye Tamari. Bwe waayitawo ebbanga, Amunooni, nga naye mutabani wa Dawudi, ne yeegomba Tamari. Amunooni n'anyolwa, n'okulwala n'alwala olw'okwagala ennyo mwannyina Tamari. Kubanga Tamari yali tannamanya musajja, Amunooni n'alaba nga kizibu okumufuna. Kyokka Amunooni yalina mukwano gwe erinnya lye Yonadaabu, mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi. Yonadaabu oyo yali musajja mugerengetanya nnyo. N'agamba Amunooni nti: “Omulangira, lwaki weeyongera okukogga buli lunaku? Tombuulira?” Amunooni n'amugamba nti: “Neegomba Tamari, mwannyina muganda wange Abusaalomu.” Yonadaabu n'amugamba nti: “Galamira ku kitanda kyo, weefuule omulwadde, kitaawo bw'anajja okukulaba omugambe nti: ‘Nkwegayiridde, kkiriza mwannyinaze Tamari ajje ampe akokulya, nkalye, era akateekereteekere mu maaso gange, nkalabe, ye yennyini akampe nkalye.’ ” Amunooni n'agalamira ku kitanda kye, ne yeefuula omulwadde. Kabaka bwe yajja okumulaba, Amunooni n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, kkiriza mwannyinaze Tamari ajje anteekereteekere obugaati bubiri mu maaso gange, ye yennyini abumpe mbulye.” Awo Dawudi n'atumira Tamari eka ng'agamba nti: “Genda mu nnyumba ya mwannyoko Amunooni, omuteekereteekereyo akokulya.” Tamari n'agenda mu nnyumba mwannyina Amunooni mwe yali ng'agalamidde. N'addira obutta, n'abukanda, n'akolamu emigaati, nga Amunooni amutaddeko abiri, n'agifumba. N'akwata kye yagifumbiramu, n'agimujjulira. Kyokka Amunooni n'agaana okulya era n'agamba nti: “Gobawo bonna bave we ndi!” Bonna ne bava w'ali. Amunooni n'agamba Tamari nti: “Leeta ebyokulya mu kisenge obimpeere eno.” Tamari emigaati gy'afumbye, n'agitwala mu kisenge eri Amunooni mwannyina. Awo bwe yagimusembereza alye, n'amukwata, n'amugamba nti: “Mwannyinaze jjangu weebake nange.” Tamari n'amuddamu nti: “Nedda mwannyinaze, tonkwata, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Yisirayeli. Tokola kintu kino eky'obugwenyufu. Kale nze ndiraga wa nga mmaze okuwemuka bwe nti? Oliba omu ku bagwenyufu ab'omu Yisirayeli. Kale nno nkwegayiridde, ekyo kyogere ne kabaka, tajja kukunnyima.” Naye Amunooni n'atamuwuliriza, era kubanga yamusinza amaanyi, n'amukwata lwa mpaka, ne yeebaka naye. Awo Amunooni n'akyawa Tamari ebitakyayika. Engeri gye yamukyawamu yasinga okwegomba kwe yamwegombamu. Amunooni n'amugamba nti: “Situka ogende!” Naye Tamari n'amuddamu nti: “Nedda, eky'okunsindiikiriza kibi nnyo n'okusinga ky'osoose okukola.” Naye Amunooni n'atamuwuliriza. N'ayita omuweereza we n'amugamba nti: “Omukazi ono muggye mu maaso gange omufulumye ebweru omuggalireyo.” Tamari yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi, kubanga abambejja abatannamanya musajja bwe batyo bwe baayambalanga. Awo omuweereza wa Amunooni n'afulumya Tamari, n'amusibira ebweru. Tamari n'ateeka evvu mu mutwe gwe, n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde, ne yeetikka emikono gye ku mutwe, n'agenda ng'akaaba. Abusaalomu mwannyina n'amubuuza nti: “Amunooni mwannyoko abadde naawe? Wabula kaakano sirika, mwannyinaze, oyo mwannyoko, era kino kireme kukunakuwaza nnyo.” Tamari n'abeera mu nnyumba ya Abusaalomu mwannyina, kyokka ng'asigadde mu bbanga. Kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo. Abusaalomu n'akyawa Amunooni kubanga yali akutte Tamari mwannyina, kyokka Abusaalomu n'atayogera na Amunooni kigambo na kimu, newaakubadde ekirungi, wadde ekibi. Nga wayiseewo emyaka ebiri, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalihazori okumpi ne Efurayimu, n'ayita abalangira bonna babeereyo. Era Abusaalomu n'agenda eri kabaka n'amugamba nti: “Mukama wange, nnina abasala ebyoya by'endiga. Nkusaba ojje n'abaweereza bo mugende wamu nange.” Kabaka n'agamba Abusaalomu nti: “Nedda, mwana wange, tetujja kugenda ffenna tuleme kukuzitoowerera.” Abusaalomu n'amwetayirira, kyokka Kabaka Dawudi n'agaana okugenda, wabula n'amusabira omukisa. Abusaalomu n'amugamba nti: “Kale nno nkwegayiridde kkiriza muganda wange Amunooni, agende naffe.” Kabaka n'amubuuza nti: “Lwaki agenda naawe?” Kyokka Abusaalomu n'amwetayirira okutuusa lwe yakkiriza Amunooni n'abalangira abalala bonna okugenda naye. Awo Abusaalomu n'alagira abaweereza be nti: “Mutunuulire Amunooni, bwe mumulaba ng'atamidde omwenge, era ne mbagamba nti: ‘Mukube Amunooni mumutte,’ temutya kubanga nze nnaaba mbalagidde. Mugume mube bazira.” Abaweereza ne bakola nga Abusaalomu bwe yabalagira, ne batta Amunooni. Abalangira bonna abaasigalawo ne basituka ne beebagala ennyumbu zaabwe ne badduka. Baba bakyali mu kkubo, olugambo ne lutuuka ku Dawudi nga lugamba nti: “Abusaalomu asse abalangira bonna, obutalekaawo n'omu!” Awo kabaka n'asituka n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agalamira ku ttaka. Abaweereza abaali naye nabo ne bayuza ebyambalo byabwe. Yonadaabu, mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'agamba nti: “Mukama wange, leka kulowooza nti basse abaana bo bonna ab'obulenzi, ayi kabaka. Amunooni yekka ye afudde, kubanga Abusaalomu yalabika ng'amaliridde okumutta, okuviira ddala ku lunaku lwe yakwata mwannyina Tamari. Kale nno mukama wange kabaka, eky'okugamba nti batabani bo bonna bafudde lema na kukirowoozaako. Amunooni yekka ye afudde.” Abusaalomu n'adduka. Omuserikale eyali ku gw'okukuuma bwe yayimusa amaaso, n'alengera abantu bangi nga bajja, nga bakutte ekkubo ery'oku lusozi emabega we. Awo Yonadaabu n'agamba kabaka nti: “Ssaabasajja, batabani bo baabo bajja. Nga nze omuweereza wo bwe nnaakamala okwogera, bwe kityo bwe kiri.” Nga kyajje amale okwogera ebyo, abalangira ne batuuka, ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. Era ne kabaka n'abaweereza be bonna, ne bakaaba nnyo amaziga. Abusaalomu n'addukira ewa kabaka w'e Gesuri, gwe bayita Talumayi mutabani wa Ammihudi. Dawudi n'akungubagira mutabani we Amunooni buli lunaku. Abusaalomu bwe yadduka n'agenda e Gesuri, yabeerayo okumala emyaka esatu. Kabaka bwe yamala okukungubagira Amunooni, n'alumirwa mutabani we Abusaalomu. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'amanya nga kabaka alumirwa Abusaalomu. Bw'atyo Yowaabu n'atumya omukazi omugezi e Tekowa. Bwe yatuuka n'amugamba nti: “Weefuule afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okukungubaga, era teweesiiga wadde akazigo, obeere ng'amaze ebbanga eddene ng'okungubagira omufu. Awo olyoke ogende eri kabaka omugambe bye nnaakugamba okwogera.” Awo Yowaabu n'amugamba by'anaayogera. Awo omukazi ow'e Tekowa n'agenda eri kabaka, n'avuunama okumuwa ekitiibwa. N'amugamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnyamba!” Kabaka n'amubuuza nti: “Obadde otya?” Omukazi n'amuddamu nti: “Zansanga dda! Ndi mukazi nnamwandu, baze yafa. Nze omuweereza wo nalina batabani bange babiri, ne balwanira ku ttale nga tewali abataasa, omu n'akuba munne n'amutta. Kaakano ab'ekika bonna bannyimukiddemu nze omuweereza wo. Baŋŋamba nti: ‘Waayo oyo eyatta muganda we, tumutte olw'okutta muganda we, bwe tutyo tutte n'omusika.’ Kale bwe banaamutta, nnaaba nsigaliddewo nga sirina mwana, era banaaba bazikirizza erinnya lya baze, nga talinaawo zzadde lisigaddewo ku nsi.” Kabaka n'agamba omukazi oyo nti: “Ddayo ewuwo, nja kulagira, ensonga zo zikolebweko.” Omukazi oyo ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti: “Mukama wange, ayi kabaka, omusango gubeere ku nze ne ku b'ennyumba ya kitange. Ggwe, ayi kabaka, n'entebe yo ey'obwakabaka, obe nga toliiko musango.” Kabaka n'amuddamu nti: “Buli akutiisatiisa mundeetere, tagenda kuddamu kukutawaanya.” Omukazi n'agamba nti: “Nkwegayiridde, ayi kabaka, ojjukire Mukama Katonda wo, omuntu oyo omuwoolezi w'eggwanga ery'okuyiwa omusaayi, aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange.” Kabaka n'agamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba wadde oluviiri n'olumu olwa mutabani wo, oluligwa wansi.” Omukazi n'amugamba nti: “Mukama wange, kabaka, nkwegayiridde nzikiriza nze omuweereza wo, mbeeko ekirala kye nkubuulira.” Kabaka n'amugamba nti: “Yogera.” Omukazi n'agamba nti: “Kale lwaki wateeseza abantu ba Katonda ekintu ekifaanana bwe kityo? Weesingisa wekka omusango mu ekyo ky'ova okwogera, ayi kabaka, bw'ogaana okukomyaawo mutabani wo eyagobebwa. Ffenna tuli ba kufa, era tuli ng'amazzi agayiise ku ttaka agatayinza kuyoolebwa. Era ne Katonda, omuntu bw'afa, tamukomyawo mu bulamu. Kyokka kabaka asobola okusala amagezi n'akomyawo oyo eyagobebwa, aleme okusigala mu buwaŋŋanguse. Kale nno, Mukama wange kabaka, kubanga abantu bantiisizzatiisizza kyenvudde nzija nze omuweereza wo njogereko naawe, nga nsuubira nti ayi kabaka, nze omuweereza wo, ononkolera kye nkusaba. Ddala ayi kabaka, ojja kuwulira, omponye oyo ayagala okunzikiriza nze ne mutabani wange, atuggye mu butaka bwaffe Katonda bwe yatuwa. Awo nze omuweereza wo ne ŋŋamba nti ekigambo kyo mukama wange kabaka, kinampa emirembe, kubanga ggwe kabaka oli nga malayika wa Katonda, asobola okwawula ekirungi n'ekibi. Mukama Katonda wo abeere naawe!” Awo kabaka, n'agamba omukazi nti: “Tobaako ky'onkisa ku kye ŋŋenda okukubuuza.” Omukazi n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, mbuuza.” Kabaka n'amubuuza nti: “Yowaabu yateesezza naawe mu bino byonna?” Omukazi n'addamu nti: “Nga bw'oli omulamu, ayi mukama wange kabaka, tewali ayinza kubuzaabuza okweggya ku ekyo, ayi mukama wange kabaka ky'oyogedde, kubanga omuweereza wo Yowaabu ye yandagidde era ye yaŋŋambye ebyo byonna bye njogedde nze omuweereza wo. Olw'okwagala okukyusa ebiriwo, omuweereza wo Yowaabu kye yavudde akola bw'atyo. Era ggwe Mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.” Awo kabaka n'agamba Yowaabu nti: “Kaakano nzikirizza. Genda okomyewo omuvubuka oyo Abusaalomu.” Awo Yowaabu n'avuunama okussaamu kabaka ekitiibwa, n'amwebaza ng'agamba nti: “Kaakano nze omuweereza wo ntegedde ng'onjagala ayi mukama wange kabaka, kubanga ayi kabaka okkirizza nze omuweereza wo kye nkusabye.” Yowaabu n'asituka n'agenda e Gesuri, n'akomyawo Abusaalomu mu Yerusaalemu. Awo kabaka n'agamba nti: “Agende mu nnyumba eyiye, era aleme okujjanga mu maaso gange.” Awo Abusaalomu n'abeera mu nnyumba eyiye, n'atajjanga mu maaso ga kabaka. Mu Yisirayeli yonna, temwali muntu mulungi mu ndabika ye nga Abusaalomu. Okuva wansi ku bigere bye okutuuka ku mutwe gwe ku bwetikkiro, teyaliiko kamogo. Buli nkomerero ya mwaka, Abusaalomu yasalanga enviiri ku mutwe gwe, kubanga zaamuzitoowereranga. Bwe yazisalanga, n'azipima, zaawezanga kilo bbiri mu bipimo bya kabaka. Abusaalomu yalina batabani be basatu ne muwala we omu gwe bayita Tamari eyali omukazi omulungi ennyo mu ndabika ye. Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri mu Yerusaalemu, nga talabaganye na kabaka. Awo Abusaalomu n'atumira Yowaabu, amutume eri kabaka, kyokka Yowaabu n'atakkiriza kujja gy'ali. Abusaalomu n'amutumya omulundi ogwokubiri, era Yowaabu n'agaana okujja. Awo Abusaalomu n'agamba abaweereza be nti: “Mugende mwokye omusiri gwa Yowaabu ogw'eŋŋaano oguliraanye n'ogwange.” Ne bagenda ne bagwokya. Awo Yowaabu n'asituka n'agenda ewa Abusaalomu, n'amubuuza nti: “Lwaki abaweereza bo bookezza omusiri gwange?” Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti: “Laba nakutumira nga ŋŋamba nti: ‘Jjangu wano, nkutume eri kabaka okumubuuza nti naviira ki e Gesuri? Waakiri nandisigadde eyo n'okutuusa kati. Kale kaakano ka ŋŋende ndabe kabaka. Era oba nga nnina omusango, anzite.’ ” Awo Yowaabu n'agenda eri kabaka n'amubuulira. Abusaalomu n'ajja eri kabaka, n'avuunama mu maaso ge. Kabaka n'anywegera Abusaalomu. Ebyo bwe byaggwa, Abusaalomu ne yeetegekera ekigaali n'embalaasi, n'abasajja amakumi ataano abamukuuma. Abusaalomu n'azuukukanga mu makya n'ayimiriranga ku kkubo awali omulyango oguyingira mu kibuga. Awo omuntu bwe yajjanga ng'alina ensonga gy'ayagala kabaka amumalire, Abusaalomu ng'amuyita n'amubuuza nti: “Oli wa mu kibuga ki?” Omuntu oyo n'amuddamu nti: “Nze omuweereza wo ndi wa mu Kika gundi ekya Yisirayeli.” Abusaalomu ng'amugamba nti: “Laba, ensonga yo nnungi era ntuufu, naye tewali muntu n'omu kabaka gw'asigidde kugiwulira.” Abusaalomu n'ayongerangako nti: “Singa nali mulamuzi mu nsi muno, buli muntu eyandizzenga gye ndi ng'alina ensonga yonna oba omusango, nandimusaliddenga mu mazima.” Awo omuntu, bwe yasemberanga awali Abusaalomu okumuvuunamira, nga Abusaalomu agolola omukono gwe ng'amukwatako era ng'amunywegera. Abusaalomu n'akolanga bw'atyo ku buli Muyisirayeli eyajjanga ewa kabaka okumumalira ensonga, Abusaalomu n'alimbalimba bw'atyo abantu ba Yisirayeli. Bwe waayitawo emyaka ena, Abusaalomu n'agamba kabaka nti: “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Heburooni ntuukirize obweyamo bwange bwe neeyama eri Mukama. Bwe nali mu Gesuri eky'omu Aramu, neeyama nti: ‘Singa Mukama alinkomyawo mu Yerusaalemu, ndimusinziriza mu Heburooni.’ ” Kabaka n'agamba nti: “Genda mirembe.” Abusaalomu n'asituka n'agenda mu Heburooni. Awo n'atuma mu bubba ababaka mu Bika byonna ebya Yisirayeli ng'agamba nti: “Bwe munaawulira eddoboozi ly'amakondeere, ne mulyoka mugamba nti: ‘Abusaalomu ye kabaka mu Heburooni!’ ” Era Abusaalomu okuva e Yerusaalemu, yagenda n'abasajja ebikumi bibiri be yayita babe abagenyi be, abaagenda mu mutima omulungi, nga tebalina kye bamanyi ku ntegeka ye. Awo Abusaalomu bwe yali ng'awaayo ekitambiro, n'atumya Ahitofeeli Omugiilo omuwi w'amagezi owa Dawudi, ave mu kibuga kye e Giilo, ajje. Okwekoba ne kuba kwa maanyi, abeekoba ne Abusaalomu ne bagenda nga beeyongera obungi. Awo omubaka n'ajja eri Dawudi n'agamba nti: “Abayisirayeli baawuguse, bagoberedde Abusaalomu.” Awo Dawudi n'agamba abaweereza be bonna abaali naye mu Yerusaalemu nti: “Tusituke, tudduke. Bwe tutadduke, tewaabeewo n'omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Mwanguwe okugenda, sikulwa ng'atutuukako amangu, n'atukolako akabi, n'atta ab'omu kibuga bonna.” Awo abaweereza ba kabaka ne bawera mu maaso ge, nga bagamba nti: “Ayi Ssaabasajja, ffe abaweereza bo tweteeseteese okukola kyonna mukama waffe kabaka ky'onooyagala.” Kabaka n'afuluma, n'ab'omu maka ge bonna ne bamugoberera. Wabula n'alekawo abakazi kkumi okukuuma olubiri. Awo kabaka n'afuluma, abantu bonna ne bamugoberera, n'ayimirira ku nnyumba esembayo. Abaweereza be ne bamuyitako ku mabbali. N'abakuumi be bonna Abakereti n'Abapeleti, era n'Abagitti bonna abasajja olukaaga, abaamugoberera okuva e Gaati, ne bayita mu maaso ge. Awo kabaka Dawudi n'agamba Yittayi Omugitti nti: “Lwaki naawe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka omuggya, kubanga oli mugwira era omunoonyi w'obubudamo, eyaleka amaka go. Waakamala wano ekiseera kitono, kale kaakano nnaakubungeesa ntya wamu naffe, nga simanyi na gye nnyinza kugenda? Ddayo, ozzeeyo ne baganda bo, mwagalanenga era mubeerenga beesigwa.” Yittayi n'ayanukula kabaka, n'agamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, buli gy'onoogenda nange gye nnaagenda, ne bwe kinaaba nga kyetaagisa kufa.” Awo Dawudi n'agamba Yittayi nti: “Kale genda, yitawo!” Yittayi Omugitti n'ayitawo ne basajja be bonna, n'abantu abalala bonna be yali nabo. Abantu bonna ne bakuba ebiwoobe nga kabaka ne be yali nabo bonna bagenda. Kabaka n'abantu bonna be yali nabo ne basomoka akagga Kidurooni, ne bagenda mu ddungu. Awo kabona Zaddooki naye n'ajja n'Abaleevi bonna, nga basitudde Essanduuko ya Katonda ey'Endagaano. Ne Abiyataari n'agenda. Essanduuko ya Katonda ne bagiwummuza wansi, okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga. Awo kabaka n'agamba Zaddooki nti: “Essanduuko ya Katonda gizzeeyo mu kibuga. Mukama bw'aliba ankwatiddwa ekisa, alinkomyawo ne ngiraba era n'ekifo kye mw'abeera. Kyokka bw'aligamba nti: ‘Sikusiima,’ kale nzuuno, nzikirizza ankoleko nga bw'ayagala.” Kabaka era n'agamba Zaddooki kabona nti: “Oli mulabi? Situka oddeyo mirembe mu kibuga, wamu ne mutabani wo Ahimaazi, ne Yonataani mutabani wa Abiyataari. Nze nja kusigala nga nnindira ku kagga we basomokera okugenda mu ddungu, okutuusa lwe munantumira ne mubaako kye muntegeeza.” Awo Zaddooki ne Abiyataari ne batwala Essanduuko ya Katonda ne bagizzaayo mu Yerusaalemu, era ne basigala eyo. Awo Dawudi n'agenda ng'akaaba n'ayambuka ku lusozi olw'emiti emizayiti, nga yeebisse ku mutwe era nga tayambadde ngatto. N'abaali naye bonna, ne bagenda nga bakaaba ne bambuka, nga beebisse ku mitwe gyabwe. Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti: Ahitofeeli ye omu ku beekobye ne Abusaalomu. Dawudi n'agamba nti: “Ayi Mukama nkwegayiridde, faafaaganya amagezi ga Ahitofeeli g'awa.” Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y'olusozi we baasinziza Katonda, Husaayi Omwaruki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekyambalo kye era nga yeesize ettaka mu mutwe. Dawudi n'amugamba nti: “Bw'onoogenda nange, ojja kunkaluubiriza. Naye bw'onoddayo mu kibuga, n'ogamba Abusaalomu nti: ‘Nze nja kuba muweereza wo, ayi kabaka, nga bwe nabanga omuweereza wa kitaawo mu biseera eby'edda, era bwe ntyo bwe nnaaba omuweereza wo kaakano’ onoolemesa amagezi Ahitofeeli g'awa. Bakabona Zaddooki ne Abiyataari bajja kubeerayo wamu naawe. Kale babuulirenga byonna by'onoobanga owulidde mu lubiri lwa kabaka. Eyo gye bali, balinayo batabani baabwe bombi: Ahimaazi mutabani wa Zaddooki ne Yonataani mutabani wa Abiyataari. Era abo be munantumiranga okuntegeeza buli kye munaawuliranga.” Awo Husaayi mukwano gwa Dawudi n'addayo mu kibuga Yerusaalemu, ne bakituukiramu kumu ne Abusaalomu. Dawudi bwe yali ng'ayisizza katono entikko y'olusozi, n'asisinkana Ziba omuweereza wa Mefiboseti, ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n'ebirimba kikumi eby'emizabbibu emikalu, n'ebirala kikumi eby'ebibala eby'omu kyeya, n'ensawo y'omwenge ey'eddiba. Awo kabaka n'abuuza Ziba nti: “Bino oleese byaki?” Ziba n'amuddamu nti: “Endogoyi za ba mu nnyumba yo, ayi kabaka, okwebagalanga. Emigaati n'ebibala eby'omu kyeya bya balenzi bo okulya, n'omwenge gwa kunywebwa abanaaba bakooyedde eyo mu ddungu.” Kabaka n'abuuza nti: “Ye, muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Asigaddeyo mu Yerusaalemu, kubanga agamba nti: ‘Kaakano Abayisirayeli bananziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ” Awo kabaka n'agamba Ziba nti: “Byonna ebibadde ebya Mefiboseti, kaakano bibyo.” Ziba n'agamba nti: “Businze, Ssaabasajja! Neeyongere okuganja, mu maaso go, mukama wange.” Kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bahurimu, n'evaayo omusajja erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera asibuka mu nnyumba ya Sawulo, n'ajja ng'ayogera ebivuma. N'akasuukirira Dawudi amayinja wamu n'abaweereza be bonna, n'abantu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abaali babugiriza Dawudi erudda n'erudda. Awo Simeeyi n'ayogera ng'avuma Dawudi nti: “Genda, genda, musajja ggwe omutemu era ataliimu nsa! Mukama awooledde eggwanga ku ggwe olw'okutta ab'ennyumba ya Sawulo, gwe wanyagako obwakabaka bwe. Obwakabaka Mukama kyavudde abuwa Abusaalomu mutabani wo. Laba kaakano otuuse okuzikirira, kubanga oli mutemu!” Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, n'agamba kabaka nti: “Embwa eno enfu lwaki ekuvuma, mukama wange kabaka? Nzikiriza ŋŋende mmutemeko omutwe.” Kabaka n'agamba Abisaayi nti: “Mundeke mmwe batabani ba Zeruyiya! Bw'aba ng'avuma, nga Mukama ye amugambye nti: ‘Vuma Dawudi,’ ani anaagamba nti: ‘Lwaki okoze bw'otyo?’ ” Dawudi n'agamba Abisaayi n'abaweereza be bonna nti: “Kaakano, oba mutabani wange nze kennyini gwe nneezaalira ye ayagala okunzita, kale alabisa Omubenyamiini oyo? Mumuleke avume, kubanga Mukama ye amulagidde. Oboolyawo Mukama anaatunuulira ekibi ekinkoleddwako, n'ansasulamu ekirungi olw'okuvumibwa olwaleero.” Awo Dawudi ne basajja be ne beeyongera okutambula nga bayita mu kkubo. Simeeyi n'abagoberera ng'agenda akiiba olusozi ng'ayogera ebivuma, era ng'abakasuukirira amayinja, era ng'afuumuula n'enfuufu. Kabaka n'abantu bonna abaali naye ne batuuka nga bakooye, ne bawummulirako eyo. Abusaalomu n'abantu bonna Abayisirayeli ne bayingira Yerusaalemu, nga Abusaalomu ali wamu ne Ahitofeeli. Husaayi Omwaruki, mukwano gwa Dawudi, n'ajja eri Abusaalomu. Husaayi oyo n'agamba Abusaalomu nti: “Wangaala, ayi kabaka, wangaala, ayi kabaka.” Abusaalomu n'abuuza Husaayi nti: “Kuno kwe kwagala kw'oyagalamu mukwano gwo? Lwaki tewagenda ne mukwano gwo Dawudi?” Husaayi n'agamba Abusaalomu nti: “Nedda, nze nnaabeeranga w'oyo Mukama n'abantu bano n'Abayisirayeli bonna gwe balonze, era ye gwe nnaabeeranga naye. Era n'ekirala, ani gwe nnaaweereza bwe siweereza mutabani wa mukama wange? Nga bwe naweerezanga kitaawo, era bwe ntyo naawe bwe nnaakuweerezanga.” Awo Abusaalomu n'agamba Ahitofeeli nti: “Tuwe amagezi, ki kye tuba tukola?” Ahitofeeli n'agamba Abusaalomu nti: “Genda weebake ne baka kitaawo be yaleka okukuuma olubiri. Awo buli muntu ali mu Yisirayeli anaakiwulira, anaamanya nti kitaawo akutamiddwa, era bonna abali naawe, baneeyongera amaanyi.” Awo ne bamusimbira weema waggulu ku nnyumba ya kabaka, Abusaalomu n'ayingiramu ng'abantu bonna balaba, ne yeebaka ne baka kitaawe. Mu biro ebyo amagezi Ahitofeeli ge yawanga, gakkirizibwanga ng'ago omuntu g'aba yeebuuzizza ku Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baagasiimanga. Awo Ahitofeeli n'agamba Abusaalomu nti: “Ka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, nsituke mpondere Dawudi ekiro kino, mmutuukeko ng'akyali mukoowu era ng'aweddemu amaanyi, mmukube entiisa, n'abantu bonna abali naye badduke, nzite kabaka yekka. Awo ndyoke nkomyewo abantu bonna gy'oli, ng'omukazi bw'akomawo ewa bba. Gwe weetaaga okutta, ali omu, abantu bonna balyoke babe n'emirembe.” Awo Abusaalomu n'abakulembeze ba Yisirayeli bonna ne basiima amagezi Ahitofeeli ge yabawa. Awo Abusaalomu n'agamba nti: “Kale yita Husaayi Omwaruki naye tuwulire ky'agamba.” Husaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti: “Ahitofeeli atugambye bw'ati ne bw'ati. Tukole nga bw'agambye? Oba nga si kyo, ggwe otuwa magezi ki?” Husaayi n'agamba Abusaalomu nti: “Amagezi Ahitofeeli g'akuwadde ku mulundi guno, si malungi.” Husaayi era n'agamba nti: “Omanyi bulungi nga kitaawo ne basajja be bazira nnamige, ba maanyi era bakambwe ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale. N'ekirala, kitaawo mumanyirivu mu by'entalo, tajja kusula na bantu. Era kaakano yeekwese mu bunnya oba awantu awalala. Bwe wanaabaawo abafa mu lulumba olusooka, abanaakiwulira bajja kugamba nti abagoberezi ba Abusaalomu battiddwa nnyo. Awo nno n'omusajja omuzira era alina omutima ng'ogw'empologoma, ajja kuggweeramu ddala amaanyi kubanga Yisirayeli yonna emanyi nti kitaawo musajja wa maanyi, era nga n'abo abali naye basajja bazira. N'olwekyo amagezi ge mpa ge gano: kuŋŋaanya Abayisirayeli bonna okuva e Daani okutuuka e Beruseba babe bangi ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, naawe wennyini ogende nabo mu lutalo. Tujja kumuzuula wonna w'anaabeera, tumugweko ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka. Era ye ne basajja be, tubatte obutalekaawo n'omu. Bw'anaddukira mu kibuga, Abayisirayeli bonna bajja kuleeta emiguwa mu kibuga ekyo, ekibuga ekyo tukiwalule okukituusa mu kiwonvu, waleme kusigalayo jjinja na limu.” Awo Abusaalomu n'Abayisirayeli bonna ne bagamba nti: “Amagezi ga Husaayi Omwaruki gasinze aga Ahitofeeli,” kubanga Mukama yali asazeewo amagezi amalungi Ahitofeeli ge yawa galeme kugobererwa, Mukama alyoke aleete akabi ku Abusaalomu. Awo Husaayi n'abuulira bakabona Zaddooki ne Abiyataari amagezi g'awadde Abusaalomu n'abakulembeze ba Yisirayeli bonna, era n'amagezi Ahitofeeli ge yali abawadde. Husaayi n'abagamba nti: “Kale nno mutumire mangu Dawudi, aleme kusula ku nsomoko ey'omu ddungu, wabula asomoke mangu, ye kabaka n'abantu be bonna abali naye baleme kumalibwawo.” Awo Yonataani ne Ahimaazi ne balindiranga ku Luzzi Enirogeli, kubanga baali beewala okulabibwa mu kibuga. Omuzaana n'agendanga n'abalambula, bo ne bagenda babuulira kabaka Dawudi. Naye lwali lumu ne wabaawo omulenzi eyabalaba, n'abuulira Abusaalomu. Awo bombi ne bagenda mangu, ne batuuka ku nnyumba y'omusajja e Bahurimu. Omusajja ono yalina oluzzi mu luggya lwe, ne bakka omwo. Muk'omusajja oyo n'addira ekibikka ku luzzi, n'alubikkako, n'ayanjalirako eŋŋaano ensekule, nga tewali ayinza kubaako ky'ateebereza. Awo abaweereza ba Abusaalomu ne bajja ku nnyumba ne babuuza omukazi nti: “Ahimaazi ne Yonataani bali ludda wa?” Omukazi n'abaddamu nti: “Basomose akagga.” Awo bwe baanoonya ne batabalaba, ne baddayo e Yerusaalemu. Awo nga bamaze okugenda, Ahimaazi ne Yonataani ne bavaayo mu luzzi ne bagenda, ne babuulira Dawudi. Ne bamugamba nti: “Musituke musomoke mangu amazzi, kubanga Ahitofeeli abasalidde amagezi okubalwanyisa.” Dawudi n'abantu bonna abaali naye, ne basituka ne basomoka Yorudaani. Emmambya okugenda okusala nga bonna bamaze okusomoka Yorudaani. Ahitofeeli bwe yalaba ng'amagezi ge tebagagoberedde, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe, n'atereeza eby'omu maka ge, ne yeetuga, n'afa. Ne bamuziika ku kiggya kya kitaawe. Dawudi n'atuuka e Mahanayimu. Ne Abusaalomu n'asomoka Yorudaani ng'ali n'Abayisirayeli bonna. Abusaalomu yali alonze Amasa okukulembera eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Yitura Omuyisirayeli, eyali awasizza Abigayili muwala wa Nahasi, era muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu. Abayisirayeli ne Abusaalomu ne basiisira mu kitundu ky'e Gileyaadi. Dawudi bwe yatuuka e Mahanayimu, Sobi mutabani wa Nahasi ow'e Rabba mu nsi ya Ammoni, ne Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'e Lodebari, ne Baruzillayi ow'e Rogeliimu eky'omu Gileyaadi, ne baleeta ebitanda, n'ebibya n'entamu, n'eŋŋaano, ne bbaale, n'obuwunga, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, ne mpokya omusiike, n'omubisi gw'enjuki, n'amata aga bbongo, n'endiga, n'omuzigo, gw'ente ogukuze. Ebyo byonna ne babireetera Dawudi n'abantu abali naye, balye, kubanga baagamba nti: “Abantu balumiddwa enjala n'ennyonta, era bakooyedde mu ddungu.” Awo Dawudi n'abala abantu abaali naye n'abateekako abakulira olukumi lukumi, n'abakulira ekikumi kikumi. Dawudi n'agaba eggye nga liri mu bibinja bisatu ebyenkanankana. Ekibinja ekimu ne kikulirwa Yowaabu, ekirala ne kikulirwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, era muganda wa Yowaabu, n'ekirala ne kikulirwa Yittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti: “Nange kennyini nja kugenda wamu nammwe.” Naye abantu ne bagamba nti: “Tojja kugenda, kubanga ffe bwe tunadduka, abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Wadde ku bantu baffe ne bwe kunaafaako ekimu ekyokubiri, era abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Naye ggwe wenkana abantu omutwalo mulamba, mu ffe. N'olwekyo kirungi osigale mu kibuga mw'oba osinziira okutuweereza ab'okutudduukirira.” Awo kabaka n'abagamba nti: “Kye musiima kye nnaakola.” N'ayimirira ku mabbali g'omulyango, abantu bonna ne bafuluma nga bali mu bibinja eby'ekikumi kikumi, n'olukumi lukumi. Kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Yittayi ng'agamba nti: “Temukola kabi konna ku mulenzi oyo Abusaalomu, mumunkwatira bulungi!” Era abantu bonna ne bawulira nga kabaka alagira abakulu b'eggye bonna, ebikwata ku Abusaalomu. Awo ab'eggye lya Dawudi ne bagenda okulwanyisa Abayisirayeli. Olutalo ne lulwanirwa mu kibira kya Efurayimu. Awo Abayisirayeli ne bawangulirwa eyo abaweereza ba Dawudi. Ku lunaku olwo ne babattamu abantu bangi abaawera emitwalo ebiri. Olutalo ne lubuna ekitundu ekyo kyonna, era abantu abaafiira mu kibira ku lunaku olwo baali bangi okusinga abattibwa mu lutalo. Awo Abusaalomu yali yeebagadde ennyumbu, n'asisinkana abaweereza ba Dawudi nga tategedde. Ennyumbu n'eyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omuvule omunene. Awo omutwe gwe ne guwagamira mu matabi g'omuti ogwo, n'alengejjera mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n'esigala ng'egenda. Awo omu eyalaba, n'abuulira Yowaabu n'amugamba nti: “Ndabye Abusaalomu ng'aleebeetera mu muvule.” Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira, nti: “Kiki? Omulabye? Kale lwaki tomuttiddeewo n'agwa wansi? Nandibadde nkuwa ebitundu kkumi ebya ffeeza, n'olukoba.” Omusajja n'agamba Yowaabu nti: “Ne bwe nandikutte ku bitundu olukumi ebya ffeeza, sandigolodde mukono gwange kukola kabi ku mutabani wa kabaka, kubanga twawulira nga kabaka akulagira ggwe, ne Abisaayi, ne Yittayi, nti: ‘Mwegendereze, waleme kubaawo akola akabi ku mulenzi oyo Abusaalomu!’ Era singa neetulinkirizza ne mmutta, kabaka yandikitegedde, kubanga tewali kimukisibwa, era naawe wennyini wandinneefuulidde.” Awo Yowaabu n'agamba nti: “Sijja kudda awo kumala biseera naawe.” N'akwata obusaale busatu n'abusindirira Abusaalomu mu mutima ng'akyali mulamu, ng'alengejjera mu muvule. Awo abalenzi kkumi abakwasi b'ebyokulwanyisa bya Yowaabu, ne beebungulula Abusaalomu, ne bamukuba, ne bamutta. Yowaabu n'afuuwa eŋŋombe, abantu ne balekera awo okuwondera Abayisirayeli, ne bakomawo, kubanga Yowaabu yabayimiriza. Ne batwala Abusaalomu ne bamusuula mu kinnya ekinene ekyali mu kibira, ne bamutuumako entuumu ennene ennyo ey'amayinja. Awo Abayisirayeli bonna ne badduka buli omu ng'adda mu maka ge. Abusaalomu bwe yali ng'akyali mulamu, yali addidde empagi ng'agyesimbidde mu kiwonvu kya kabaka, kubanga yagamba nti: “Sirina mwana wa bulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi eyo n'agibbulamu erinnya lye, era eyitibwa Kijjukizo kya Abusaalomu n'okutuusa kati. Awo Ahinaazi mutabani wa Zaddooki n'agamba Yowaabu nti: “Ka nziruke ŋŋende ntegeeze kabaka, nga Mukama bw'amuwonyezza abalabe be.” Naye Yowaabu n'amugamba nti: “Totwala mawulire ago olwaleero, oligatwala olulala. Naye olwaleero tojja kutwala mawulire, kubanga mutabani wa kabaka afudde.” Awo Yowaabu n'agamba Omukuusi nti: “Genda obuulire kabaka by'olabye.” Omukuusi bwe yamala okukutama mu maaso ga Yowaabu, n'adduka. Awo Ahimaazi mutabani wa Zaddooki n'addamu okugamba Yowaabu nti: “Ka kibe ki oba ki, nange ka nziruke ngoberere Omukuusi.” Yowaabu n'agamba nti: “Mutabani, oyagalira ki okudduka, nga toofune mpeera olw'amawulire ago?” Yowaabu n'amugamba nti: “Kale dduka.” Ahimaazi n'adduka ng'akutte ekkubo ery'omu lusenyi, n'ayisa Omukuusi. Dawudi yali atudde wansi w'ekisasi ekiri wakati w'emiryango ebiri. Omukuumi n'alinnya waggulu ku kisenge, mu kafo awalengererwa ak'oku wankaaki, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera omusajja ajja adduka ng'ali bwomu. Omukuumi n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'abuulira kabaka. Kabaka n'agamba nti: “Bw'aba ng'ali bwomu, alina amawulire g'aleese amalungi.” Omusajja n'ajja ku misinde, n'asembera kumpi. Awo omukuumi n'alaba omusajja omulala, naye ng'ajja adduka. Omukuumi n'akoowoola omuggazi w'omulyango n'amugamba nti: “Laba waliyo n'omusajja omulala ajja adduka ng'ali bwomu!” Kabaka n'addamu nti: “Ndowooza n'oyo amawulire g'aleese malungi.” Omukuumi n'agamba nti: “Ndaba ng'omusajja akulembedde adduka nga Ahimaazi, mutabani wa Zaddooki.” Kabaka n'agamba nti: “Oyo musajja mulungi, n'amawulire g'aleese malungi.” Awo Ahimaazi n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'agamba kabaka nti: “Mirembe!” N'avuunamira kabaka ng'omutwe gwe gutuukira ddala ku ttaka, n'agamba nti: “Mukama Katonda wo atenderezebwe, azikirizza abasajja ababadde bakujeemedde, ayi mukama wange kabaka.” Awo kabaka n'abuuza nti: “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Ahimaazi n'addamu nti: “Yowaabu bwe yantumye, nze omuweereza wo, ayi kabaka, nalabye abantu nga bali mu kabuguutano, naye saategedde kyabaddewo.” Awo kabaka n'amugamba nti: “Dda ku mabbali, oyimirire awo.” N'adda ku mabbali, n'ayimirira. Awo n'Omukuusi n'atuuka n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, nkuleetedde amawulire. Mukama awooledde eggwanga olwaleero ku abo bonna abaakujeemera.” Kabaka n'abuuza Omukuusi nti: “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Omukuusi n'addamu nti: “Ayi mukama wange, kabaka, abalabe bo, n'abo bonna abakusitukiramu okukukola akabi, babe ng'omuvubuka oyo!” Awo kabaka n'anakuwala nnyo, n'alinnya waggulu mu kisenge ekiri waggulu ku wankaaki, n'akaaba amaziga, era n'agenda ng'akuba ebiwoobe nti: “Woowe, omwana wange Abusaalomu, omwana wange Abusaalomu, omwana wange Abusaalomu! Kale singa nze nfudde mu kifo kyo! Mwana wange Abusaalomu, mwana wange!” Ne babuulira Yowaabu nti: “Kabaka ali eri akaaba amaziga ng'akungubagira Abusaalomu.” Ku lunaku olwo abantu bonna abaali basanyuka olw'obuwanguzi ne bakungubaga, kubanga baawulira ku olwo nti kabaka akungubagira mutabani we. Ku lunaku olwo abantu ne badda mu kibuga nga bebbirira bwebbirizi, ng'abantu abebbirira olw'ensonyi nga badduse okuva mu lutalo. Kabaka ne yeebikka ku maaso n'atema omulanga ng'agamba nti: “Woowe, mwana wange Abusaalomu! Woowe, Abusaalomu, mwana wange, mutabani wange!” Awo Yowaabu n'ayingira mu lubiri lwa kabaka, n'agamba kabaka nti: “Olwaleero abaweereza bo abawonyezza obulamu bwo n'obwa batabani bo, n'obwa bawala bo, n'obwa bakazi bo n'obw'abazaana bo, obamazeemu amaanyi, kubanga oyagala abakukyawa, n'okyawa abo abakwagala. Olwaleero olagidde ddala lwatu nti abakulu mu ggye lyo n'abaweereza bo, tobalabamu mugaso. Olwaleero ntegedde nti singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe ffenna nga tufudde, wandisanyuse nnyo. Kale nno situka ogende oyogere bulungi n'abaweereza bo, kubanga ndayira Mukama nga bw'otoogendeyo, tewaabe n'omu asigala naawe ekiro kino. Ekyo kijja kukuviiramu akabi akasinga ke wali olabye okuva mu buvubuka bwo n'okutuusa kati.” Awo kabaka n'asituka n'agenda atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu nti: “Kabaka wuuli atudde mu mulyango.” Abantu bonna ne bajja awali kabaka. Mu kiseera ekyo Abayisirayeli baali badduse nga buli omu azzeeyo ewuwe. Awo abantu bonna ne bawakana mu Bika bya Yisirayeli byonna nga bagamba nti: “Kabaka yatuwonya abalabe baffe, n'atuwonya Abafilistiya. Kale kaakano adduse Abusaalomu n'ava mu nsi ye. Ne Abusaalomu gwe twafukako omuzigo okutufuga, afiiridde mu lutalo. Kale temuliiko kye mwogera ku kya kukomyawo kabaka?” Awo kabaka Dawudi n'atumira Zaddooki ne Abiyataari bakabona ng'agamba nti: Mugambe abakulembeze mu Kika kya Yuda nti: “Lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu lubiri lwe? Ebigambo Abayisirayeli bonna bye bagambye, bimaze okutuuka ku kabaka mu nnyumba ye. Mmwe baganda bange ab'omusaayi gwange ddala. Kale lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu lubiri lwe?” Era mugambe Amasa nti: “Ggwe ow'omusaayi gwange ddala, bw'otoobe mukulu wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva kati, Katonda ankube anzite.” Bw'atyo kabaka n'agonza emitima gy'ab'omu Kika kya Yuda bonna, ne bassa kimu, ne bamutumira nga bagamba nti: “Komawo ggwe, n'abaweereza bo bonna.” Awo kabaka n'akomawo, n'atuuka ku Mugga Yorudaani. Ab'omu Kika kya Yuda ne bajja e Gilugaali, nga bagenda okusisinkana kabaka n'okumusomosa Yorudaani. Awo Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamiini ow'e Bahurimu, n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'ab'omu Kika kya Yuda okusisinkana kabaka Dawudi. N'ajja n'abasajja lukumi Ababenyamiini. Ne Ziba omuweereza w'omu nnyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano, n'abaweereza be amakumi abiri, ne baserengeta ku Yorudaani nga kabaka abalaba. Ne basomoka omugga okuwerekera ab'omu nnyumba ya kabaka, n'okukola buli ky'asiima. Kabaka bwe yali ng'agenda okusomoka Yorudaani, Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunama mu maaso ge. N'amugamba nti: “Mukama wange, oleme kunvunaana musango, wadde okujjukira ekyo ekitasaana nze omuweereza wo kye nakola, mukama wange kabaka lwe wava mu Yerusaalemu. Era ayi kabaka, oleme kukisiba ku mwoyo, kubanga nze omuweereza wo, mmanyi nga nayonoona. Era olwaleero kyenvudde nzija, nga nze nsoose ab'ennyumba ya Yosefu bonna okuserengeta okusisinkana mukama wange kabaka.” Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu nti: “Simeeyi tasaana kuttibwa olw'ekyo? Yavuma oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.” Dawudi n'agamba nti: “Mumbeeredde ki mmwe batabani ba Zeruyiya? Mwagala kundeetako bulabe olwaleero? Mu Yisirayeli tewali anattibwa olwaleero, kubanga mmanyi ng'olwaleero nze kabaka mu Yisirayeli.” Awo kabaka n'agamba Simeeyi nti: “Tojja kufa.” Kabaka n'amulayirira. Awo Mefiboseti muzzukulu wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana kabaka. Yali tanaabanga bigere, newaakubadde okumwa ebirevu, wadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako, okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe. Awo Mefiboseti bwe yatuuka e Yerusaalemu okusisinkana kabaka, kabaka n'amugamba nti: “Mefiboseti, lwaki tewagenda nange?” N'addamu nti: “Mukama wange, ayi kabaka, nga nze omuweereza wo bwe ndi omulema, nagamba nti: ‘Nnaateeka amatandiiko ku ndogoyi yange ngyebagale ŋŋende ne kabaka.’ Kyokka omuweereza wange n'annimba. Era yampaayiriza gy'oli, nze omuddu wo, ayi mukama wange kabaka. Naye mukama wange kabaka, ali nga malayika wa Katonda. Kale kola ekyo ky'olaba nga kirungi. Ab'omu nnyumba ya kitange baali ba kuttirwa mu maaso go, mukama wange kabaka. Naye n'ontuuza nze omuweereza wo, mu abo abaliira ku lujjuliro lwo. Kale nnina nsonga ki kwe nsinziira okukusaba ekisingawo?” Awo kabaka n'amugamba nti: “Ne bw'otooyongere kwogera bingi bwe bityo, nze ŋŋambye nti ettaka muligabane ggwe ne Ziba.” Mefiboseti n'agamba kabaka nti: “Ye k'abitwale byonna, kasita ggwe mukama wange kabaka okomyewo mirembe mu lubiri lwo.” Awo Baruzillayi Omugileyaadi n'ava e Rogeliimu n'aserengeta ku mugga Yorudaani, n'agusomoka ng'ali wamu ne kabaka gwe yawerekera okumutuusa emitala. Baruzillayi oyo yali musajja mukadde nnyo, ng'aweza emyaka kinaana. Yali mugagga nnyo era ye yawanga kabaka ebyokulya ebbanga lyonna kabaka lye yamala e Mahanayimu. Awo kabaka n'agamba Baruzillayi nti: “Jjangu tugende ffenna, tuliirenga wamu e Yerusaalemu.” Baruzillayi n'agamba kabaka nti: “Emyaka egy'obulamu nkyasigazizzaayo emeka, ndyoke ŋŋende naawe kabaka e Yerusaalemu? Kaakano mpeza emyaka kinaana. Nnyinza okwawula ekisanyusa n'ekitasanyusa? Nze omuweereza wo, nnyinza okuwoomerwa bye ndya oba bye nnywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g'abasajja n'abakazi abayimba? Kale mukama wange kabaka, lwaki nze omuweereza wo, nnyongera ku buzito bw'olina? Nze omuweereza wo, mpozzi ka nkuwerekereko katono, nkusomose omugga Yorudaani. Naye ayi kabaka, ompeera ki empeera eyenkanidde awo? Nkwegayiridde nzikiriza nze omuweereza wo, nzireyo, nfiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange n'eya mmange. Naye omuweereza wo Kimamu wuuno. Ono ye aba agenda naawe mukama wange kabaka, omukolere kyonna ky'osiima.” Kabaka n'addamu nti: “Kimamu ajja kugenda nange, era ndimukolera kyonna ky'osiima. Era naawe kyonna ky'oyagala nkukolere, nja kukikukolera.” Abantu bonna ne basomoka omugga Yorudaani, ne kabaka n'asomoka. Kabaka n'anywegera Baruzillayi, n'amusabira omukisa. Baruzillayi n'addayo mu maka ge. Awo kabaka bwe yasomoka, n'agenda e Gilugaali, ng'awerekerwako abantu bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekitundu eky'Abayisirayeli. Era ne Kimamu yali naye. Abayisirayeli bonna ne bajja eri kabaka ne bamugamba nti: “Baganda baffe ab'omu Kika kya Yuda, lwaki baakututte mu bubba, ne bakusomosa Yorudaani, ggwe n'ab'omu nnyumba yo, ne basajja bo bonna ayi kabaka Dawudi?” Awo ab'omu Kika kya Yuda bonna ne baddamu Abayisirayeli nti: “Kubanga kabaka wa kika kyaffe. Kale lwaki ekyo kibasunguwaza? Tulina ekintu n'ekimu ekya kabaka kye tulidde? Oba waliwo ekirabo ky'atuwadde?” Abayisirayeli nabo ne baddamu ab'omu Kika kya Yuda nti: “Obwannannyini bwe tulina ku kabaka bwa mirundi kkumi. Era Dawudi waffe, n'okusinga bw'ali owammwe. Kale lwaki mwatunyoomye? Si ffe twasooka okuleeta ekirowoozo eky'okukomyawo kabaka waffe?” Naye ab'omu Kika kya Yuda bye baayogera, ne bisinga amaanyi eby'Abayisirayeli. Waaliwo omusajja ataliimu nsa, erinnya lye Seeba, mutabani wa Bikuri ow'omu Kika kya Benyamiini. Awo Seeba n'afuuwa ekkondeere, n'agamba nti: “Ffe tetulina mugabo mu Dawudi, wadde obusika mu mutabani wa Yesse. Abayisirayeli, buli muntu adde ewaabwe.” Awo Abayisirayeli bonna ne baabulira Dawudi, ne bagoberera Seeba mutabani wa Bikuri. Kyokka ab'omu Kika kya Yuda ne banywerera ku kabaka waabwe, ne bagenda naye okuva ku Yorudaani okutuuka mu Yerusaalemu. Awo Dawudi bwe yatuuka mu lubiri lwe e Yerusaalemu, abakazi ekkumi, abazaana be, be yali alese okululabirira n'abaggyayo n'abateeka mu nnyumba ey'okubakuumiramu. N'abawanga bye beetaaga, wabula n'atabayisanga nga bakazi be. Ne baggalirwa obulamu bwabwe bwonna, nga bali nga bannamwandu. Awo kabaka n'agamba Amasa nti: “Mpitira ab'omu Kika kya Yuda, bakuŋŋaane mu nnaku ssatu, era naawe obeerewo wano.” Amasa n'agenda okuyita ab'omu Kika kya Yuda, wabula n'asussa mu nnaku ze baamuwa. Awo Dawudi n'agamba Abisaayi nti: “Seeba mutabani wa Bikuri ajja kutukolako akabi n'okusinga Abusaalomu. Kale twala abaweereza ba mukama wo, omuwondere, sikulwa ng'asanga ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'ayingira omwo n'atubulako.” Awo abasajja ba Yowaabu, Abakereti n'Abapeleti, n'abasajja abalala bonna ab'amaanyi, ne bava mu Yerusaalemu ne bagenda ne Abisaayi okuwondera Seeba mutabani wa Bikuri. Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri e Gibiyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowaabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'entalo ng'asibye mu kiwato kye olukoba, nga kuliko n'ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yavaayo n'ajja, ne kisowokamu ne kigwa. Yowaabu n'agamba Amasa nti: “Oli mirembe, muganda wange?” Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera. Naye Amasa n'atassaayo mwoyo ku kitala, Yowaabu kye yali akutte. Awo Yowaabu n'akifumisa Amasa mu lubuto, ebyenda ne biyiika wansi, n'atamufumita gwakubiri. Amasa n'afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne bawondera Seeba mutabani wa Bikuri. Awo omu ku basajja ba Yowaabu n'ayimirira kumpi ne Amasa n'agamba nti: “Ayagala Yowaabu, era n'oyo ali ku ludda lwa Dawudi, agoberere Yowaabu!” Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Buli eyayitangawo n'amulaba, ng'ayimirira. Omusajja wa Yowaabu bwe yalaba ng'abantu bonna bayimirira, n'aggya Amasa mu luguudo, n'amutwala mu nsiko, n'amubikkako ekyambalo. Amasa bwe yamala okuggyibwa mu luguudo, abantu bonna ne bagenda ne Yowaabu okuwondera Seeba mutabani wa Bikuri. Awo Seeba n'ayita mu bika byonna ebya Yisirayeli, n'atuuka mu Abeli ne mu Betimaaka. Awo Abaaberi bonna ne bakuŋŋaana, nabo ne bamugoberera. Abasajja bonna abaali ne Yowaabu ne bajja ne bamuzingiza mu Abeli eky'e Betimaaka, ne batuuma entuumu y'ettaka ne bagyenkanya n'ekigo obugulumivu okukyetooloola. Ne baggunda ekisenge kigwe wansi. Awo omukazi omugezi n'asinziira mu kibuga, n'akoowoola nti: “Muwulire, muwulire! Mbeegayiridde muŋŋambire Yowaabu asembere wano njogere naye.” Awo Yowaabu n'amusemberera. Omukazi n'abuuza nti: “Ggwe Yowaabu?” Yowaabu n'amuddamu nti: “Nze wuuyo.” Omukazi n'amugamba nti: “Nkusaba owulirize bye nkugamba nze omuweereza wo.” Yowaabu n'amuddamu nti: “Mpuliriza.” Awo omukazi n'agamba nti: “Ab'edda baagambanga nti: ‘Tugende twebuuze mu Abeli.’ Era baamalirangayo ebibasobedde. Nze ndi omu ku abo abaagala emirembe era abeesigwa mu Yisirayeli. Oyagala okuzikiriza ekibuga ekizadde mu Yisirayeli? Lwaki oyagala okusaanyaawo abantu ba Mukama?” Awo Yowaabu n'addamu nti: “Kikafuuwe, kikafuuwe, nze okusaanyaawo oba okuzikiriza. Ekyo si bwe kiri wabula waliwo omusajja erinnya lye Seeba, mutabani wa Bikuri, ow'omu nsi ey'ensozi eya Efurayimu ajeemedde Kabaka Dawudi. Kale mumuweeyo oyo yekka, olwo nja kuleka ekibuga.” Omukazi n'agamba Yowaabu nti: “Tujja kukukasukira omutwe gwe nga tugubuusa ekisenge.” Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'abawa amagezi. Ne batemako omutwe gwa Seeba mutabani wa Bikuri, ne bagukasuka eri Yowaabu. Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere, basajja be ne baamuka ekibuga, buli omu n'adda ewuwe. Ne Yowaabu n'addayo e Yerusaalemu eri kabaka. Awo Yowaabu ye yali omuduumizi w'eggye lyonna erya Yisirayeli, Benaaya mutabani wa Yehoyaada ye yali omuduumizi w'abakuumi ba Dawudi; Adolaamu ye yali omusolooza w'omusolo, Yehosafaati mutabani wa Ahiluudi ye yawandiikanga ebigwawo. Seva ye yali omuwandiisi, ne Zaddooki ne Abiyataari be baali bakabona. Yira Omuyayiri naye yali kabona wa Dawudi. Awo ku mulembe gwa Dawudi waaliwo enjala nnyingi okumala emyaka esatu egiddiriŋŋana. Dawudi n'agenda ne yeebuuza ku Mukama. Mukama n'agamba nti: “Lwa Sawulo n'ab'omu nnyumba ye abalina omusango gw'obutemu, kubanga Sawulo yatta Abagibiyoni.” Kabaka n'ayita Abagibiyoni n'abaako ky'abagamba. Abagibiyoni abo, tebaali Bayisirayeli, wabula Baamori abaasigalawo. Newaakubadde ng'Abayisirayeli baali babalayiridde obutabatta, kyokka Sawulo olw'okulumirwa Abayisirayeli n'ab'omu Kika kya Yuda n'ayagala okubatta. Dawudi n'agamba Abagibiyoni nti: “Kiki kye mba mbakolera? Era mutango ki gwe mba mbawa mulyoke musabire abantu ba Katonda omukisa?” Abagibiyoni ne bamuddamu nti: “Tetwagala ffeeza wadde zaabu okuva ku Sawulo wadde ku b'omu nnyumba ye. Era tetwagala muntu n'omu attibwe mu Yisirayeli ku lwaffe.” Dawudi n'abagamba nti: “Kye munaagamba, kye nnaabakolera.” Ne bagamba kabaka nti: “Omusajja eyayagala okutuzikiriza n'atusalira amagezi okutusaanyaawo ng'ayagala ekifo kye tubeeramu kireme kuba mu nsi ya Yisirayeli, wabeewo abasajja musanvu ku bazzukulu be, batuweebwe tugende tubawanike mu maaso ga Mukama e Gibeya, ekibuga kya Sawulo eyalondebwa Mukama.” Kabaka n'abaddamu nti: “Nja kubabawa mmwe.” Kyokka kabaka n'ataliza Mefiboseti mutabani wa Yonataani omwana wa Sawulo, olw'omukago Dawudi ne Yonataani mutabani wa Sawulo gwe batta nga balayira Mukama. Wabula kabaka n'aggyayo Arumoni ne Mefiboseti batabani ba Rizupa muwala wa Aya, Rizupa oyo be yazaalira Sawulo. N'aggyayo n'abaana ab'obulenzi bataano, aba Mikali muwala wa Sawulo, Mikali oyo be yazaalira Adriyeri mutabani wa Baruzillayi ow'e Mehola. N'abawaayo eri Abagibiyoni, ne babawanika mu maaso ga Mukama ku lusozi. Bonna omusanvu ne bafiira wamu. Battibwa mu nnaku z'amakungula ezisooka, we batandikira okukungula bbaale. Awo Rizupa, muwala wa Aya, n'atwala ekikutiya, n'akyeyalira ku lwazi, okuva ku ntandikwa y'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatandika okutonnya n'ekuba emirambo egyo. Emisana n'ekiro n'atakkiriza binyonyi wadde ebisolo okugirya. Ne babuulira Dawudi ebyo Rizupa muwala wa Aya era nnamwandu wa Sawulo bye yakola. Dawudi n'agenda n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'aga Yonataani mutabani we, ku bantu b'e Yabesigileyaadi abaali bagabbye mu luguudo olw'e Betisaani, Abafilistiya gye baabawanika ku lunaku lwe babattirako e Gilubowa. Bw'atyo n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'aga Yonataani mutabani we. Ne bakuŋŋaanya n'ag'abo abaawanikibwa. Amagumba ga Sawulo n'aga Yonataani mutabani we, ne bagaziika mu nsi ya Benyamiini mu Zela, ku kiggya kya Kiisi kitaawe wa Sawulo. Ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'akkiriza bye basabira ensi yaabwe. Awo Abafilistiya ne baddamu okulwana n'Abayisirayeli. Dawudi n'aserengeta n'abaweereza be, ne balwana n'Abafilistiya. Dawudi n'akoowa nnyo. Awo Yisubibenobu, omu ku bazzukulu b'omusajja omuwagguufu, ng'alina effumu ery'ekikomo erizitowa kilo nga ssatu n'ekitundu, era nga yeesibye ekitala ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi. Kyokka Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'adduukirira Dawudi, n'afumita Omufilistiya oyo, n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti: “Tokyaddamu kugenda naffe mu lutalo, oleme okuzikiza ettaala ya Yisirayeli.” Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo olutalo nate n'Abafilistiya e Gobu. Awo Sibbekaayi ow'e Huusa n'atta Safu, omu ku bazzukulu b'omusajja omuwagguufu. Era ne wabaawo olutalo olulala n'Abafilistiya e Gobu. Eluhanani mutabani wa Yaale-oregimu ow'e Betilehemu n'atta Goliyaati Omugitti. Olunyago lw'effumu lya Goliyaati oyo lwali luli ng'omuti ogulukirwako engoye. Era ne wabaawo olutalo olulala e Gaati, nga mulimu omusajja omuwagguufu eyalina engalo mukaaga ku buli kibatu, n'obugere mukaaga ku buli kigere, byonna wamu amakumi abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu wa musajja omuwagguufu. Awo bwe yasoomoza Abayisirayeli, Yonataani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi, n'amutta. Abo abana baali bazzukulu ba musajja omuwagguufu ow'e Gaati. Ne battibwa Dawudi n'abaweereza be. Awo Dawudi n'ayimbira Mukama oluyimba luno, ku lunaku Mukama lwe yamuwonya Sawulo n'abalabe be abalala bonna. Yagamba nti: Mukama lwe lwazi lwange, ekigo kyange ekigumu era ye andokola. Katonda ge maanyi gange; ye gwe nneesiga. Ye ngabo yange, era ye andokola. Gwe munaala gwange omuwanvu, era ekiddukiro kyange. Omulokozi wange, ggwe omponya abakambwe. Nkoowoola Mukama agwanira okutenderezebwa. Bwe ntyo, nnaawona abalabe bange. Nali neetooloddwa akabi ak'okufa, amayengo ag'okuzikirira ne ganjiikako. Emiguwa egy'emagombe gyanneetooloola, emitego gy'olumbe ne gintaayiza. Mu buyinike bwange nakoowoola Mukama, ne mpita Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange, n'awuliriza okukaaba kwange. Ensi yayuuguuma, n'ekankana. Emisingi gy'eggulu gyajugumira, ne ginyeenyezebwa, kubanga Katonda asunguwadde. Omukka gwanyooka mu nnyindo ze. Omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya, ne gukoleeza amanda. Yakutamya eggulu n'akka, ekizikiza ekikutte ennyo nga kiri wansi w'ebigere bye. Yeebagala Kerubi n'abuuka, n'alabikira ku biwaawaatiro by'embuyaga. Yeebikka ekizikiza, ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola. Amanda ag'omuliro ne gava mu kumyansa. Mukama yabwatukira mu ggulu, eddoboozi ly'Atenkanika ne liwulirwa. Yalasa obusaale n'abasaasaanya, yaweereza okumyansa, n'abagoba. Mukama bwe yakayuka era bwe yafuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze, entobo y'ennyanja n'erabika, n'emisingi gy'ensi ne gyeyerula. Mukama yasinziira waggulu n'ankwata, n'anzigya mu mazzi amangi. Yamponya abalabe bange ab'amaanyi, n'abo abankyawa, abansinza amaanyi. Bannumba nga ndi mu buzibu, naye Mukama ye yankuuma. Yantuusa mu kifo ekigazi n'amponya, kubanga yanjagala. Mukama yampa empeera, kubanga nali mwenkanya. Yansasula kubanga nakola ebirungi. Nawulira amateeka ga Mukama, ne siva ku Katonda wange nga nkola ekibi. Nakwata ebiragiro bye byonna, era sivanga ku mateeka ge. Era saalina musango mu maaso ge, nneekuuma ne sikola kibi. Mukama kyavudde ampa empeera, kubanga ndi mwenkanya, era sirina musango mu maaso ge. Oli wa kisa eri ab'ekisa, oli wa mazima eri ab'amazima. Oli mulongoofu eri abalongoofu, naye oli mukambwe eri ababi. Olokola abo ababonyaabonyezebwa, naye otunuulira abeekulumbaza, obatoowaze. Ayi Mukama ggwe ompa ekitangaala, n'ongobako ekizikiza. Ggwe onnyamba okulumba eggye. Ayi Katonda wange, ggwe ompa amaanyi okubuuka ekigo. Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, ebyo by'asuubiza byesigibwa. Ye ataasa bonna abamwesiga. Mukama ye Katonda yekka; Katonda waffe, ye yekka atutaasa. Katonda kye kigo kyange ekigumu, ye andagirira ekkubo eritaliimu kabi. Ebigere byange abinyweza okutambula ng'ennangaazi. Ankuumira waggulu ku bifo ebigulumivu. Anjigiriza okulwana, ne nsobola okuleega omutego ogw'ekikomo. Ayi Mukama, onkuuma era ondokola, era obukkakkamu bwo bungulumizza. Wagaziya ekkubo mwe ntambulira, ebigere byange ne bitaseerera. Nawondera abalabe bange ne mbazikiriza, era saakyuka nga tebannasaanyizibwawo. Mbazikirizza ne mbafumitira ddala, ne batayinza kuyimuka. Bagudde wansi w'ebigere byange. Wampa amaanyi okulwana olutalo, n'owangula abannumba. Waleetera abalabe bange okunziruka, abo abankyawa ne mbazikiriza. Baanoonya ow'okubayamba, ne wataba abawonya. Baakoowoola Mukama, kyokka n'atabaddamu. Ne mbasekulasekula ne bafuuka ng'enfuufu. Nabalinnyirira ng'ebisooto eby'omu nguudo, ne mbasaasaanya. Omponyezza okwegugunga kw'abantu bange, n'onfuula omufuzi w'amawanga. Abantu be simanyanga, balimpeereza. Ab'amawanga amalala balinjeemulukukira. Oluliwulira ebigambo byange, baliŋŋondera. Baliggwaamu amaanyi, era baliva mu bifo byabwe bye beekwekamu, ne bajja nga bakankana. Mukama mulamu! Oyo antaasa, atenderezebwe! Era Katonda andokola, agulumizibwe! Ye Katonda awoolera eggwanga ku lwange, n'awangula amawanga ngafuge. Anzigya mu mikono gy'abalabe bange. Weewaawo, ayi Mukama, ongulumiza okusinga abannumba, omponya abantu abajjudde obukambwe. Kyennaava nkutenda mu mawanga, ayi Mukama, ne nnyimba okukutendereza. Katonda gw'awadde obwakabaka, amuwa obuwanguzi obw'amaanyi. Akwatirwa ekisa omusiige we Dawudi, n'ezzadde lye emirembe gyonna. Bino bye bigambo bya Dawudi ebyasembayo, kwe kwogera kwa Dawudi mutabani wa Yesse, kwe kwogera kw'omusajja Katonda gwe yagulumiza. Katonda wa Yakobo yamufukako omuzigo. Ye muyimbi ow'eggono owa Zabbuli za Yisirayeli. Mwoyo wa Mukama ayogerera mu nze; ekigambo kye kiri ku lulimi lwange. Katonda wa Yisirayeli yayogera, omukuumi wa Yisirayeli yaŋŋamba nti: “Oyo afugisa abantu amazima, afuga ng'atya Katonda, ali ng'akasana k'oku makya ak'enjuba ng'evaayo akaaka ku ggulu okutali bire; ne katangalijja ku muddo enkuba ng'ekedde.” Era bwe lityo ezzadde lyange bwe liri ne Katonda, kubanga yakola nange endagaano ey'olubeerera, eteredde mu byonna era enkakafu. Byonna eby'okunnyamba era ne bye neegomba ajja kubituukiriza. Naye abatatya Katonda bonna, baliba ng'amaggwa agasindiikirizibwa, agatayinza kukwatibwa na ngalo. Naye omuntu agakwasaako kyuma na lunyago lwa ffumu, ne gookerwa awo, obutasigalawo na limu. Gano ge mannya g'abasajja ab'amaanyi Dawudi be yalina: asooka ye Yosebu Basseebeti ow'e Takemoni, omukulu w'Abasatu. Yali ayitibwa Adino Omwezeni kubanga yalwana n'abasajja lunaana, n'abatta lumu. Owookubiri ku basatu abo ab'amaanyi ye Eleyazaari, mutabani wa Dodo, Dodo mutabani wa Ahohi. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafilistiya abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abayisirayeli bonna ne badduka. Naye ye n'asituka n'atta Abafilistiya, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo, Abayisirayeli ne bakomawo awali Eleyazaari, lwa kunyaga bunyazi. Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omuharari. Awo Abafilistiya baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjudde ebijanjaalo, Abayisirayeli ne badduka Abafilistiya abo. Kyokka ye Samma n'ayimirira wakati mu musiri, n'agukuuma, n'atta Abafilistiya. Mukama n'awa Yisirayeli obuwanguzi obw'amaanyi. Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu, ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adullamu, mu kiseera eky'amakungula ng'ekibinja ky'Abafilistiya kisiisidde mu kiwonvu ky'e Refayiimu. Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo ekigumu, n'ekibinja ky'Abafilistiya nga kiri Betilehemu. Dawudi n'alumwa nnyo ennyonta, n'agamba nti: “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunywa agava mu luzzi olw'e Betilehemu, oluli ku wankaaki!” Awo abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu lusiisira lw'Abafilistiya, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Betilehemu, oluli ku wankaaki, ne bagaleetera Dawudi. Kyokka n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama. N'agamba nti: “Kikafuuwe, ayi Mukama, nze okunywa amazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima!” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo abasajja abasatu ab'amaanyi bye baakola. Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja amakumi asatu ab'amaanyi. Yagalula effumu lye okulwana n'abasajja ebikumi bisatu n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu makumi asatu. Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu. Benaaya mutabani wa Yehoyaada ow'e Kabuzeeli naye yali musajja muzira. Yakola ebikolwa eby'amaanyi. Yatta abasajja Abamowaabu babiri ab'amaanyi ng'empologoma, era olumu mu biseera eby'omuzira yakka mu bunnya n'atta empologoma. Era yatta omusajja Omumisiri eyali ow'ekiwago, eyalina effumu. Benaaya yagenda gy'ali ng'alina muggo, n'asika effumu ly'Omumisiri n'alimufumisa, n'amutta. Ebyo Benaaya mutabani wa Yehoyaada bye yakola, n'aba n'erinnya mu abo amakumi asatu. Yasinga ekitiibwa abo amakumi asatu, kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be. Abalala ku basajja amakumi asatu be bano: Asaheeli muganda wa Yowaabu, Eluhanani, mutabani wa Dodo ow'e Betilehemu, Samma Omuharodi, Elika Omuharodi, Helezi Omupaluti, Yira mutabani wa Yikkesi Omutekowa, Abiyezeeri Omwanetooti ne Mebunnayi Omuhusati; Zalumoni Omwahohi, Maharaayi Omunetofa, Helebu mutabani wa Baana Omunetofa, Yittayi mutabani wa Ribayi ow'e Gibeya eky'Ababenyamiini, Benaaya Omupiratoni; Hiddayi ow'oku bugga bw'e Gaasi, Abiyaluboni Omwarubati, Azumaveti Omubaruhumi, Eliyaaba Omusaalubooni; batabani ba Yaseni: Yonataani, Samma Omuharari, Ahiyaamu mutabani wa Sarari Omuharari, Elifeleti mutabani wa Ahasubayi ow'e Maaka, Eliyaamu mutabani wa Ahitofeeli ow'e Giilo, Heziro ow'e Karumeeli, Paarayi Omwarubi, Yigali mutabani wa Natani ow'e Zoba, Bani Omugaadi, Zeleki Omwammoni, Naharayi Omubeeroti eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya; Yira Omuyituri, Garebu Omuhiiti, ne Wuriya Omuhiiti. Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu. Awo Mukama era n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'akubiriza Dawudi abaleetere akabi ng'amugamba nti: “Genda obale abantu bonna ab'omu Yisirayeli ne Buyudaaya.” Bw'atyo Dawudi n'agamba Yowaabu omuduumizi w'eggye eyali naye nti: “Genda kaakano oyiteeyite mu Bika bya Yisirayeli byonna, okuva e Daani okutuuka e Beruseba, mubale abantu ntegeere bwe benkana obungi.” Yowaabu n'agamba kabaka nti: “Mukama Katonda wo ayaze abantu ba Yisirayeli, beeyongere obungi emirundi kikumi era naawe obeerabireko. Wabula, mukama wange kabaka, lwaki osanyukira ekintu ekyo?” Naye Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bawalirizibwa okukola ekyo kabaka kye yalagira. Bw'atyo Yowaabu n'abaduumizi b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka, ne bagenda okubala abantu ba Yisirayeli. Ne basomoka omugga Yorudaani ne basiisira mu Aloweri ku ludda olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu kya Gaadi, n'okutuuka e Yazeri. Ne batuuka e Gileyaadi ne mu nsi ey'e Tatimu Hodusi, ne batuuka e Dani-yaani, ne beetooloola okutuuka e Sidoni. Ne batuuka mu kigo ekigumu eky'e Tiiro, ne mu bibuga byonna eby'Abahiivi n'eby'Abakanaani ne bamalira e Beruseba mu bukiikaddyo bwa Buyudaaya. Awo ne baddayo mu Yerusaalemu nga bayise mu kitundu ekyo kyonna, okumala emyezi mwenda n'ennaku amakumi abiri. Awo Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu be baabala. Mu Yisirayeli mwalimu abasajja emitwalo kinaana abasobola okulwana, ne mu Buyudaaya mwalimu emitwalo amakumi ataano. Awo Dawudi ng'amaze okubala abantu ne yeeraliikirira mu mutima, n'agamba Mukama nti: “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze. Naye kaakano, Ayi Mukama nkwegayiridde sonyiwa ekibi kyange nze omuweereza wo. Nkoze kya busirusiru nnyo.” Gaadi omulanzi ye yali omuwi w'amagezi owa Dawudi. Dawudi bwe yazuukuka ku makya, Mukama n'agamba Gaadi nti: “Genda ogambe Dawudi nti: ‘Mukama agamba nti akuteereddewo ebintu bisatu, olondeko kimu ky'aba akukolako.’ ” Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amubuulira. N'amugamba nti: “Ku bisatu olondako kiruwa? Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu, oba ggwe okumala emyezi esatu ng'odduka abalabe bo abakuyigganya, oba okugwirwa kawumpuli mu nsi yo okumala ennaku ssatu? Lowooza olabe kye nnaddiza oyo antumye.” Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Kaakati nsobeddwa nnyo. Wabula ka tubonerezebwe Mukama kubanga ye alina okusaasira kungi, naye nneme kubonerezebwa bantu.” Awo Mukama n'asindika kawumpuli mu Yisirayeli, okuva ku makya ago okutuuka ku kiseera ekyateekebwawo. Ne wafa abantu emitwalo musanvu, okuva e Daani okutuuka e Beruseba. Awo malayika bwe yagolola omukono gwe okuzikiriza Yerusaalemu, Mukama ne yeddamu olw'akabi ako. N'agamba malayika eyali azikiriza abantu nti: “Kinaamala, lekera awo!” Malayika yali mu gguuliro lya Arawuna Omuyebusi. Awo Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta abantu, n'agamba Mukama nti: “Nze nnina omusango, nze nakola eby'obubambaavu, naye abantu bano bakoze ki? Nkwegayiridde, bonereza nze n'ab'omu nnyumba ya kitange.” Ku lunaku olwo Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amugamba nti: “Genda ozimbire Mukama alutaari mu gguuliro lya Arawuna Omuyebusi.” Awo Dawudi n'agenda nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Gaadi. Awo Arawuna bwe yalengera nga kabaka n'abakungu be bajja gy'ali, n'avaayo n'avuunamira kabaka. N'agamba nti: “Mukama wange kabaka, kiki ekikuleese eri omuweereza wo?” Dawudi n'agamba nti: “Ekindeese njagala onguze egguuliro lyo, nzimbiremu Mukama alutaari, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.” Awo Arawuna n'agamba Dawudi nti: “Mukama wange, kabaka, twala oweeyo eri Mukama buli ky'olaba nga kirungi. Ente ziizino, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiwuula era n'amatandiiko g'ente bibeere enku. Ebyo byonna, ayi kabaka, nze Arawuna mbikuwa.” Arawuna n'ayongera okugamba kabaka nti: “Mukama Katonda wo akkirize ekitambiro ky'onoomuwa.” Kabaka n'agamba Arawuna nti: “Nedda. Nja kubikugulako buguzi, omuwendo gw'onoolamula. Sijja kuwaayo eri Mukama Katonda wange, ebiweebwayo ebyokebwa bye siguze.” Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ezo ku muwendo gwa bitundu bya ffeeza amakumi ataano. Awo Dawudi n'azimbira Mukama alutaari, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Awo Mukama n'awulira Dawudi bye yasabira ensi, kawumpuli n'aziyizibwa mu Yisirayeli. Kabaka Dawudi yali akaddiye nnyo, era newaakubadde baamubikkanga bulangiti eziwerako, kyokka nga tabuguma. Abaweereza be, kyebaava bamugamba nti: “Mukama waffe, ka tukunoonyezeeyo omuwala omuto embeerera, abeerenga naawe, akulabirirenga, era yeebakenga wamu naawe, akubugumye.” Ne banoonya mu Yisirayeli yonna omuwala omulungi mu ndabika ye, era mu Sunemu ne bazuulayo omuwala, erinnya lye Abisaagi, ne bamuleeta eri kabaka. Omuwala oyo yali mulungi nnyo mu ndabika. N'aweerezanga kabaka, era n'amulabiriranga, wabula kabaka n'atamufuula mukazi we. Awo omulangira Adoniya, nga nnyina ye Haggiti, ne yeekulumbaza, n'agamba nti: “Nze ndisikira obwakabaka!” Ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja amakumi ataano abaddusi okumukulemberangamu. Kitaawe teyamunenyaako n'akatono, kumugamba nti: “Lwaki okola bw'otyo?” Adoniya oyo yali musajja mulungi nnyo mu ndabika ye, era ye yali muto w'omulangira Abusaalomu, era nga ye amuddako. Adoniya n'ateesa ne Yowaabu mutabani w'omukazi ayitibwa Zeruyiya, era ne Abiyataari kabona, abo ne baba abawagizi be, abamuyamba. Kyokka Zaddooki Kabona, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada ne Natani Omulanzi, ne Simeeyi, ne Reeyi, n'abasajja ba Dawudi abazira, bo tebaali ku ludda lwa Adoniya. Lwali lumu Adoniya n'aweerayo ekitambiro eky'endiga n'ente n'ennyana ezassava ku lwazi oluyitibwa olw'Emisota, okumpi ne Eni-Rogeli, n'ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n'abakungu ba kabaka bonna mu Buyudaaya, kyokka Natani Omulanzi, ne Benaaya, n'abasajja abazira, ne Solomooni muganda we, n'atabayita. Awo Natani omulanzi n'agamba Batuseba nnyina Solomooni nti: “Towulidde Adoniya mutabani wa muggya wo Haggiti bwe yeefudde kabaka, nga mukama waffe Dawudi tamanyi? Kale kaakano okusobola okuwonya obulamu bwo n'obwa mutabani wo, nkuwa amagezi ogende mangu eri Kabaka Dawudi, omugambe nti: ‘Mukama wange kabaka, tewandayirira nze omuzaana wo, nti mutabani wange Solomooni ye alikusikira, era ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka ng'ovuddewo? Kale ate Adoniya afuuse atya kabaka?’ Awo bw'onooba okyali eyo ng'oyogera ne kabaka, nange nja kuyingira, nkakase ebigambo byo.” Awo Betuseba n'agenda eri kabaka mu kisenge. Kabaka yali akaddiye nnyo, era nga Abisaagi, omuwala eyava e Sunemu, ye amulabirira. Awo Betuseba n'akutama, n'afukaamirira kabaka. Kabaka n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” Betuseba n'addamu nti: “Mukama wange, nze omuzaana wo, wandayirira Mukama, Katonda wo, nti mutabani wange Solomooni ye alikusikira, era ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka. Kyokka Adoniya wuuli yafuuse dda kabaka, nga ggwe mukama wange kabaka tomanyi. Era awaddeyo ekitambiro eky'ente n'ennyana ezassava n'endiga mu bungi, era ayise abaana bo bonna, ne Abiyataari kabona, ne Yowaabu omukulu w'eggye, wabula Solomooni omuweereza wo, ye tamuyise. Mukama wange kabaka, Abayisirayeli bonna batunuulidde ggwe, obabuulire ow'okukusikira ku bwakabaka ng'ovuddewo. Bw'otookole bw'otyo, ggwe mukama wange kabaka bw'olikisa omukono, ne weegatta ku bajjajjaabo, nze ne mutabani wange tuliyitibwa abaalyamu ensi yaabwe olukwe.” Batuseba yali akyayogera ne kabaka, Natani omulanzi n'atuuka. Ne bategeeza kabaka nti: “Natani omulanzi wuuno azze.” Natani n'ayingira awali kabaka, n'avuunama mu maaso ga kabaka. Natani n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, walangirira nti Adoniya ye alikusikira, era nti ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka? Olwaleero luno lwennyini, agenze n'awaayo ekitambiro eky'ente n'ennyana ezassava, n'endiga mu bungi, era ayise abaana bo bonna, ayi kabaka, n'abakulu mu ggye, ne Abiyataari kabona. Bali eri balya era banywera mu maaso ge, nga bagamba nti: ‘Kabaka Adoniya, wangaala!’ Kyokka nze omuweereza wo, ne Zaddooki kabona, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada, ne Solomooni omuweereza wo, teyatuyise. Mukama wange kabaka, ggwe wakoze ekyo, nga tobuuliddeeko baweereza bo kubamanyisa alikusikira ku ntebe yo ey'obwakabaka ng'ovuddewo?” Awo Kabaka Dawudi n'addamu nti: “Mpitira Batuseba.” Batuseba n'ajja n'ayimirira mu maaso ga kabaka. Kabaka n'alayira nti: “Mu mazima ga Mukama Omulamu, eyamponya mu buli kabi konna, mazima olwaleero nja kukola nga bwe nakulayirira Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nti Solomooni mutabani wo ye alinsikira ku bwakabaka, era ye alidda mu kifo kyange, atuulenga ku ntebe yange.” Awo Batuseba n'akutama, n'afukaamirira kabaka, n'agamba nti: “Mukama wange Kabaka Dawudi, wangaala!” Awo Kabaka Dawudi n'atumya Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada. Kabaka n'abagamba nti: “Mugende wamu n'abaweereza bange, ku nnyumbu eyange yennyini kwe muba mwebagaza Solomooni mutabani wange, muserengete wamu naye e Gihoni, Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, bamufukireko eyo omuzigo, okuba kabaka wa Yisirayeli. Mufuuwe ekkondeere, mulangirire nti: ‘Kabaka Solomooni awangaale!’ Olwo mulyoke mwambuke, nga mujja mumugoberera, ajje wano, atuule ku ntebe yange ey'obwakabaka, abe kabaka mu kifo kyange, kubanga ye gwe ntaddewo okuba omufuzi wa Yisirayeli ne Buyudaaya.” Benaaya mutabani wa Yehoyaada n'addamu nti: “Kikolebwe bwe kityo. Era Mukama, Katonda wo, ayi mukama wange kabaka, akikakase. Nga Mukama bwe yabanga naawe, ayi mukama wange kabaka, era bw'atyo abeerenga ne Solomooni, era akulaakulanye obwakabaka bwe n'okusinga obubwo, ayi mukama wange Kabaka Dawudi!” Awo Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'abakuumi ba kabaka Abakereti n'Abapeleti, ne beebagaza Solomooni ennyumbu ya Kabaka Dawudi ne bamuserengesa e Gihoni. Awo Zaddooki kabona n'aggya mu Weema ya Mukama ejjembe eriteekebwamu omuzigo, n'agufuka ku Solomooni. Ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne basaakaanya nti: “Kabaka Solomooni awangaale!” Awo abantu bonna ne bambuka nga bamugoberera, ne bafuuwa endere, ne baleekaana olw'essanyu, ne bakankanya n'ettaka olw'okuyoogaana kwabwe. Adoniya n'abagenyi be bonna be yayita, abaali naye, bwe baali nga bamaliriza okulya, ne bawulira oluyoogaano. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'abuuza nti: “Okuyoogaana okwo kwonna mu kibuga kwa ki?” Bwe yali ng'akyayogera, Yonataani mutabani wa Abiyataari kabona, n'ajja. Adoniya n'agamba nti: “Yingira, kubanga oli musajja mulungi, era n'amawulire g'oleese, malungi.” Yonataani n'agamba Adoniya nti: “Nedda, si bwe kiri, kubanga mukama waffe Kabaka Dawudi ataddewo Solomooni okuba kabaka. Atumye Zaddooki kabona ne Natani omulanzi, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'abakuumi ba kabaka Abakereti n'Abapeleti, ne batwala Solomooni, ne bamwebagaza ku nnyumbu ya kabaka. Era Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, bamufuseeko omuzigo e Gihoni okuba kabaka, ne bavaayo ne bambuka mu kibuga nga basanyuka, ekibuga n'okuwuuma ne kiwuuma. Olwo lwe luyoogaano lwe muwulidde. Era Solomooni atudde, ateredde ku ntebe ey'obwakabaka. N'ekirala, abakungu bazze okulanya ewa mukama waffe Kabaka Dawudi, ne bagamba nti: ‘Katonda wo afuule Solomooni mututumufu n'okusinga ggwe, era obwakabaka bwa Solomooni bukulaakulane n'okusinga obubwo.’ Kabaka Dawudi ne yeebaliza ku kitanda kye, n'atendereza Katonda nti: ‘Mukama, Katonda wa Yisirayeli yeebazibwe, ataddewo olwaleero ow'okutuula ku ntebe yange ey'obwakabaka, era n'anzikiriza okuba omulamu okulaba ekyo.’ ” Awo abagenyi ba Adoniya bonna be yayita ne batya, ne basituka, ne bagenda buli omu n'akwata lirye. Adoniya olw'okutya ennyo Solomooni, n'asituka n'agenda, ne yeekwata ku mayembe g'alutaari. Ne babuulira Solomooni nti: “Adoniya akutidde, ayi Kabaka Solomooni, era wuuli yeekutte ku mayembe g'alutaari ng'agamba nti: ‘Kabaka Solomooni andayirire olwaleero nga tajja kunzita, nze omuweereza we!’ ” Solomooni n'agamba nti: “Bw'aneeyisa obulungi, tewali wadde oluviiri lwe olumu olunaggyibwa ku mutwe gwe. Kyokka bw'alizuulibwa nga yeeyisa bubi, olwo alittibwa.” Awo Kabaka Solomooni n'atuma, ne baggya Adoniya ku alutaari. Adoniya n'ajja n'avuunamira Kabaka Solomooni. Solomooni n'amugamba nti: “Genda ewuwo.” Awo Dawudi bwe yali ng'anaatera okufa, n'akuutira Solomooni mutabani we ng'amugamba nti: “Ekiseera kyange eky'okufa ng'abantu bonna bwe bateekwa okufa, kituuse. Kale beera mugumu, weerage bw'oli omusajja, era okolenga ebyo Mukama, Katonda wo by'akulagira, okwatenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye, na byonna bye yakuutira, nga bwe byawandiikibwa mu Mateeka ga Musa, olyoke obenga n'omukisa mu byonna by'okola, yonna gy'onoogendanga, Mukama alyoke atuukirize kye yansuubiza, bwe yagamba nti tewaabulengawo wa zzadde lyange afuga Yisirayeli, kasita ab'ezzadde lyange baneegenderezanga bye yalagira, ne babikwata n'omutima gwabwe gwonna, n'omwoyo gwabwe gwonna. “N'ekirala, omanyi n'ekyo Yowaabu mutabani w'omukazi ayitibwa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abaduumizi b'eggye lya Yisirayeli ababiri Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Amasa mutabani wa Yeteri. Yabatemulira mu biseera eby'emirembe, ng'awoolera eggwanga olw'abantu abattirwa mu ntalo, bw'atyo n'andeetera okuvunaanibwa ogw'okutta abantu abatalina musango. Eky'okukola okimanyi. Tomulekanga kwefiira mirembe mu bukadde bwe. “Naye oyisanga bulungi batabani ba Baruzillayi Omugileyaadi, era babenga mu abo b'onoowanga ebibayimirizaawo, kubanga bambudaabuda bwe nadduka Abusaalomu muganda wo. “Era waliwo Simeeyi mutabani wa Geera Omubenyamiini ow'e Bahurimu, eyanvuma obubi ennyo, ku lunaku lwe nagenda e Mahanayimu. Kyokka bwe yajja okunsisinkana ku Mugga Yorudaani, namulayirira Mukama nga mmukakasa nti: ‘Sijja kukutta’ Kale nno tomusonyiwanga. Oli musajja mugezi, era omanyi eky'okumukolako. Tolemanga kumutta wadde akaddiye.” Awo Dawudi n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi. Yali afugidde Yisirayeli emyaka amakumi ana. Yafugira emyaka musanvu mu Heburooni, n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu mu Yerusaalemu. Awo Solomooni n'asikira Dawudi kitaawe ku bwakabaka, obwakabaka ne bunywerera ddala. Awo Adoniya, nnyina nga ye Haggiti, n'ajja eri Batuseba, nnyina Solomooni. Batuseba n'amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?” Adoniya n'addamu nti: “Yee, lwa mirembe.” N'ayongerako nti: “Nnina kye njagala okukugamba.” Batuseba n'agamba nti: “Kyogere.” Adoniya n'agamba nti: “Omanyi nga nze nali ow'okusikira obwakabaka, era abantu bonna mu Yisirayeli kye baali balindiridde. Naye muganda wange n'afuuka kabaka, kubanga Mukama bw'atyo bwe yayagala. Kale kaakano nkusaba ekintu kimu, era nkwegayiridde tokinnyima.” Batuseba n'amugamba nti: “Kyogere.” Adoniya n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, nsabira Kabaka Solomooni, kubanga ggwe tajja kukumma, ampe Abisaagi, omuwala eyava e Sunemu, abe mukazi wange.” Batuseba n'agamba nti: “Kale nzikirizza. Nja kukwogererayo ewa kabaka.” Awo Batuseba n'agenda eri Kabaka Solomooni okwogererayo Adoniya. Kabaka n'asituka okwaniriza nnyina era n'amuvuunamira. N'atuula ku ntebe ye. N'alagira ne baleetera nnyina entebe, nnyina n'atuula ku ludda lwa kabaka olwa ddyo. Nnyina n'agamba nti: “Nnina akantu katono kamu ke njagala okukusaba. Tokannyima.” Kabaka n'amugamba nti: “Kansabe maama, sijja kukakumma.” Batuseba n'agamba nti: “Adoniya muganda wo muwe Abisaagi eyava e Sunemu abe mukazi we.” Kabaka Solomooni n'addamu nnyina nti: “Lwaki osabira Adoniya okuweebwa Abisaagi Omusunammu? Musabire nno n'obwakabaka, kubanga ye mukulu wange, ate nga ne Abiyataari kabona, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, bali ku ludda lwe.” Awo Kabaka Solomooni n'alayira Mukama nti: “Adoniya bw'atattibwe olw'ekyo ky'asabye, Katonda ambonereze n'obukambwe. Ndayira Mukama omulamu annywezezza ku ntebe y'obwakabaka bwa kitange Dawudi, n'ampa obwakabaka, nze n'ab'ennyumba yange, mazima olwaleero Adoniya anattibwa.” Awo Kabaka Solomooni n'atuma Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'agenda n'atta Adoniya. Kabaka Solomooni n'agamba Abiyataari kabona nti: “Genda e Anatooti mu byalo byo. Osaanidde okuttibwa. Naye sijja kukutta kaakano, kubanga walabiriranga Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bwe wali ne kitange Dawudi, era kubanga wabonyaabonyezebwa wamu naye.” Awo Solomooni n'agoba Abiyataari ku mulimu gw'okuweereza Mukama mu bwakabona, bw'atyo n'atuukiriza ekyo Mukama kye yagamba ku b'ennyumba ya Eli mu Siilo. Awo amawulire ago ne gatuuka ku Yowaabu, eyali akyuse n'agoberera Adoniya, wadde nga yali teyeegasse na Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, ne yeekwata ku mayembe g'alutaari. Ne babuulira Kabaka Solomooni nti: “Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era wuuli ali ku alutaari.” Awo Solomooni n'atuma Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'amugamba nti: “Genda omutte.” Benaaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'agamba Yowaabu nti: “Kabaka akulagidde nti: ‘Fuluma.’ ” Yowaabu n'agamba nti: “Nedda, ka nfiire wano.” Benaaya n'addiza kabaka obubaka nti: “Agambye bw'atyi ne bw'atyi. Ddala bw'atyo bw'anzizeemu.” Awo kabaka n'agamba Benaaya nti: “Kola nga bw'agambye. Mutte, omuziike, nze n'ab'ennyumba ya kitange tuleme kuvunaanibwa lwa bantu Yowaabu be yatta nga tebalina musango. Mukama awoolere eggwanga ku ye, kubanga yakuba abasajja babiri, abaali abantu abalungi era abaalina ebisaanyizo okumusinga, abasajja abo, Abuneeri mutabani wa Neeri era omuduumizi w'eggye lya Yisirayeli, ne Amasa mutabani wa Yeteri era omuduumizi w'eggye lya Buyudaaya, n'abatta nga kitange Dawudi tategedde. Okuttibwa kwabwe kunaavunaanibwanga Yowaabu oyo n'ezzadde lye ennaku zonna. Naye Dawudi n'ezzadde lye, n'abasika be ku ntebe ye ey'obwakabaka, Mukama anaabawanga emirembe ennaku zonna.” Awo Benaaya mutabani wa Yehoyaada n'agenda n'akuba Yowaabu n'amutta, ne bamuziika ewuwe mu nsi ey'eddungu. Awo kabaka n'assaawo Benaaya mutabani wa Yehoyaada okuba omuduumizi omukulu ow'eggye mu kifo kya Yowaabu. Kabaka era n'assaawo Zaddooki kabona mu kifo kya Abiyataari. Awo kabaka n'atumya Simeeyi, n'amugamba nti: “Weezimbire ennyumba wano mu Yerusaalemu, obeere omwo. Togezanga n'ova mu kibuga, n'obaako awalala wonna w'olaga. Kimanye awatali kubuusabuusa nti k'olivaayo n'osomoka Akagga Kidurooni, tolirema kuttibwa, era ggwe oliba weereetedde wekka okufa.” Simeeyi n'agamba kabaka nti: “Ky'ogambye kirungi, ayi Ssaabasajja. Nga bw'ogambye, nange omuweereza wo bwe nnaakola.” Bw'atyo Simeeyi n'abeera mu Yerusaalemu ebbanga ggwanvu. Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu be ne batoloka, ne bagenda eri Akisi mutabani wa Maaka, kabaka w'e Gaati. Abantu ne babuulira Simeeyi nti: “Abaddu bo babalabye, bali Gaati.” Simeeyi n'asituka, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaati ewa Akisi okunoonya abaddu be. Bwe yatuukayo, n'abaggyayo. Abantu ne babuulira Solomooni nti Simeeyi yava e Yerusaalemu n'agenda e Gaati era yakomawo. Kabaka n'atumya Simeeyi, n'amugamba nti: “Saakulayiza Mukama, ne nkulumiriza nga ŋŋamba nti k'oliva e Yerusaalemu n'obaako awalala wonna w'olaga, kimanye awatali kubuusabuusa nga tolirema kufa? Tewakkiriza, n'oŋŋamba nti ky'owulidde kirungi? Kale lwaki tokuumye kye walayirira Mukama, era lwaki omenye ekiragiro kye nakulagira?” Kabaka n'ayongera okugamba Simeeyi nti: “Omanyi bulungi ebisobyo byonna bye wakola kitange Dawudi, Mukama kyanaava akubonereza. Kyokka nze Solomooni, Mukama ajja kumpa omukisa, era ajja kunyweza mu maaso ge obwakabaka bwa Dawudi ennaku zonna.” Awo kabaka n'alagira Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'afuluma n'akuba Simeeyi, n'amutta. Olwo Solomooni n'anywerera ddala ku bwakabaka. Awo Solomooni n'afuuka mukoddomi wa kabaka w'e Misiri, n'awasa muwala we, n'amuleeta mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba olubiri olulwe, n'Essinzizo lya Mukama, n'ekigo okwetooloola Ekibuga Yerusaalemu kyonna. Okutuusa mu kiseera ekyo, abantu baali bakyaweerayo ebitambiro mu bifo ebigulumivu eby'oku busozi, kubanga waali tewannazimbibwawo nnyumba ya kusinzizangamu Mukama. Solomooni yayagalanga Mukama, ng'agoberera ebyo Dawudi kitaawe bye yamukuutira, wabula naye yaweerangayo ebitambiro era yanyookerezanga obubaane mu bifo ebigulumivu eby'oku busozi. Awo kabaka n'agenda e Gibiyoni okuweerayo ebitambiro, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu eky'oku kasozi ekikulu. Solomooni n'aweerayo ku alutaari y'omu kifo ekyo ebitambiro lukumi ebyokebwa nga biramba. Bwe yali eyo e Gibiyoni, Mukama, Katonda n'amulabikira ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Nsaba ky'oyagala, nkikuwe.” Solomooni n'agamba nti: “Bulijjo walaganga bw'oyagala ennyo kitange Dawudi omuweereza wo, kubanga yali mulungi, mwesigwa, era mwesimbu mu kukolagana naawe. Era wayongera okulaga bw'omwagala ennyo ng'omuwa omwana ow'obulenzi afuga leero mu kifo kye. Ayi Mukama, Katonda wange, nze omuddu wo onfudde kabaka mu kifo kya kitange Dawudi nga ndi mwana muto. Simanyi bya bukulembeze. Nzuuno omuddu wo mu bantu bo be weeroboza, abantu abangi abatayinza na kubalika. Kale mpa nze omuddu wo, amagezi ge neetaaga okulamulanga abantu bo mu bwenkanya, nsobolenga okwawula ekirungi n'ekibi. Oba si ekyo, ani ayinza okulamula eggwanga lino lyonna ekkulu bwe lityo?” Mukama n'asanyuka okulaba nga Solomooni asabye ekyo. Katonda n'amugamba nti: “Kubanga osabye ekyo, n'oteesabira kuwangaala oba obugagga, wadde okufa kw'abalabe bo, naye ne weesabira amagezi okulamulanga mu bwenkanya, kale ky'osabye nkikuwadde: nkuwadde amagezi n'okutegeera, ebisinga omulala yenna bye yali afunye ku baakusooka okubaawo, era ebisinga omulala yenna by'alifuna mu balikuddirira. Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye: obugagga n'ekitiibwa mu bulamu bwo bwonna, ebisinga ebya kabaka omulala yenna. Era bw'onoobanga omuwulize gye ndi, n'okwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange byonna, nga kitaawo Dawudi bwe yakolanga, ndikuwangaaza.” Awo Solomooni n'azuukuka, n'amanya nti kibadde kirooto. N'ajja e Yerusaalemu, n'ayimirira mu maaso g'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana, n'akolera abaweereza be bonna embaga. Lwali lumu abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri Kabaka Solomooni ne beeyanjula mu maaso ge. Omu ku bo n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu. Nazaala omwana nga ndi wamu n'omukazi ono mu nnyumba. Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu nga mmaze okuzaala, omukazi ono naye n'azaala. Era twali wamu nga tewali muntu mulala, wabula ffe ffekka ababiri mu nnyumba. Awo omwana w'omukazi ono n'afa ekiro, kubanga yamwebakira. Omukazi ono n'azuukuka mu ttumbi, n'aggya omwana wange mu buliri bwange nga nze omuzaana wo ndi mu tulo, n'amuteeka mu kifuba kye, n'ateeka omwana we afudde mu kifuba kyange. Bwe nazuukuka enkeera okuyonsa omwana wange, ne ndaba ng'afudde. Kyokka bwe namwekkaanya ng'obudde bukedde, ne ndaba nga si ye mwana owange gwe nazaala.” Omukazi oli omulala n'agamba nti: “Nedda, omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo.” N'ono n'agamba nti: “Nedda, omufu ye mwana wo, omulamu ye mwana wange.” Ne bakaayana bwe batyo mu maaso ga kabaka. Awo Kabaka Solomooni n'agamba nti: “Omu agamba nti: ‘Omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo.’ Omulala agamba nti: ‘Nedda, omwana omufu ye wuwo, omulamu ye wange.’ ” Awo kabaka n'agamba nti: “Mundeetere ekitala!” Bwe baakireeta, kabaka n'agamba nti: “Musalemu omwana omulamu, ekitundu mukiwe omu, n'ekitundu mukiwe omulala.” Awo nnyina w'omwana omulamu omwoyo ne gumulumira omwana we, n'agamba kabaka nti: “Mukama wange, omwana temumutta. Mumuwe munnange.” Naye omukazi oli omulala n'agamba nti: “Temubaako n'omu ku ffe gwe mumuwa, mumusalemu.” Awo kabaka n'agamba nti: “Omwana temumutta, mumuwe omukazi eyasoose, ye nnyina.” Abayisirayeli bonna bwe baawulira Kabaka Solomooni bw'asaze omusango ogwo, ne bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga baalaba nga Katonda yali amuwadde amagezi okusalanga emisango. Awo Solomooni n'aba kabaka wa Yisirayeli yonna, era bano be bakungu abakulu be yalina: Azariya mutabani wa Zaddooki ye yali kabona. Elihoorefu ne Ahiya batabani ba Sisa be baali abawandiisi abakulu. Yehosafaati mutabani wa Ahiluudi ye yali omuwandiisi w'ebibaawo. Benaaya mutabani wa Yehoyaada ye yali omukulu w'eggye. Zaddooki ne Abiyataari be baali bakabona. Azariya mutabani wa Natani, ye yali akulira abaami. Zaabuudi mutabani wa Natani, yali kabona era mukwano gwa kabaka. Ahisaari ye yali akulira abaweereza b'omu lubiri. Adoniraamu mutabani wa Abude ye yali nnampala w'abakozesebwa n'obuwaze. Kabaka Solomooni yalina abaami kkumi na babiri nga be bakulira Yisirayeli yonna. Be baalabiranga kabaka n'ab'omu lubiri lwe ebyokulya, buli omu ku bo ng'asolooza ebyokulya bya mwezi gumu buli mwaka. Gano ge mannya gaabwe: Beenihuri, eyalabiriranga ensi ya Efurayimu ey'ensozi, Beenidekeri eyalabiriranga ebibuga Maakazi, ne Saalubimu ne Betisemesi, ne Eloni, ne Beeti Hanani. Beenihesedi eyalabiriranga ebibuga Arubooti ne Sooko, n'ensi yonna ey'e Heferi. Beenabinaadabu eyawasa Taafati muwala wa Solomooni, ye yali alabirira ekitundu kyonna ekigulumivu eky'e Doori. Baana mutabani wa Ahiluudi ye yalabiriranga Taanaki e Megiddo, n'ekitundu kyonna eky'e Beeti Seyani ekiriraanye ekibuga Zaretaani, mu bukiikaddyo bw'ekibuga Yezireeli, era okuva e Beeti Seyani okutuuka ku kibuga Abeeli Mehola n'okuyisa ekibuga Yokumeyaamu. Beenigeberi ye yalabiriranga ekibuga Ramoti mu Gileyaadi n'ebyalo bya Yayiri mutabani wa Manasse ebiri mu Gileyaadi, n'ekitundu ky'e Arugobu mu Basani, ebibuga nkaaga ebiriko ebigo ebigumu era n'ebisiba enzigi eby'ekikomo. Ahinadaabu mutabani wa Yiddo ye yalabiriranga ebitundu by'e Mahanayimu. Ahimaazi eyawasa Basemati, omulala ku bawala ba Solomooni, ye yalabiriranga ekitundu ky'e Nafutaali. Baana mutabani wa Husaayi, ye yalabiriranga ekitundu ky'e Aseri n'ekibuga Beyalooli. Yehosafaati mutabani wa Paruwa ye yalabiriranga ekitundu ky'e Yissakaari. Simeeyi mutabani wa Ela ye yalabiriranga ekitundu ky'e Benyamiini. Geberi mutabani wa Wuri ye yalabiriranga Gileyaadi eyali ensi ya Sihoni kabaka w'Abaamori ne Ogi kabaka w'e Basani. Era waaliwo omwami omu alabirira Buyudaaya yonna. Abantu mu Buyudaaya ne mu Yisirayeli baali bangi nnyo ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Baabanga balya, nga banywa era nga basanyuka. Awo Solomooni n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Ewufuraate okutuuka ku nsi y'Abafilistiya n'okutuuka ku nsalo ne Misiri. Baamuwanga omusolo, era nga bamuweereza mu bbanga ery'obulamu bwe bwonna. Ebyokulya bye baasoloolezanga Solomooni ebyetaagibwanga buli lunaku, byabanga kilo kakaaga mu lukaaga ez'obuwunga bw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, ne kilo omutwalo gumu mu enkumi ssatu mu bibiri ez'obuwunga obulala, ente kkumi ezassava, n'ente amakumi abiri ez'omu ddundiro eryabulijjo, n'endiga kikumi, nga tobaliddeeko njaza na mpeewo na nnangaazi n'enkoko ensava. Solomooni yafuganga ensi yonna ey'ebugwanjuba bw'Omugga Ewufuraate, okuva ku Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afugiramu ne bakabaka baamu, era yali mirembe n'ensi zonna ezimwetoolodde. Mu bbanga ery'obulamu bwe, abantu bonna mu Buyudaaya ne mu Yisirayeli, baali mirembe okuva e Daani okutuuka e Betuseba, buli omu ng'alina ennimiro ye ey'emizabbibu n'ey'emitiini. Solomooni yalina embalaasi emitwalo ena mu bisibo bye, ez'okusika amagaali ge. Yalina n'abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeebagala embalaasi. Abaami be abo ekkumi n'ababiri buli omu mu mwezi ogwamuweebwa, be baalabiranga Kabaka Solomooni emmere gye yeetaaga ye n'abo bonna abaalyanga ku lujjuliro lwe. Tebaaganyanga kintu na kimu kubulawo. Baaleetanga ne bbaale n'omuddo eby'embalaasi zonna n'eby'ezo ez'okudduka embiro, wonna we byabanga byetaagibwa, buli omu nga bwe yabanga alagiddwa. Katonda n'awa Solomooni amagezi n'okutegeera mu ngeri esukkiridde era eteyinza kugeraageranyizika. Amagezi ga Solomooni ne gasinga amagezi gonna ag'abantu b'Ebuvanjuba n'ag'abagezi ab'e Misiri. Solomooni ye yali asinga abantu bonna okuba omugezi. Yasinga Etani Omwezera ne Hemani, ne Kalukoli, ne Daruda, batabani ba Mahooli, n'ayatiikirira mu mawanga gonna ageetooloddewo. Yayiiya engero enkumi ssatu, n'ennyimba lukumi mu ttaano. N'ayogera ku miti n'ebimera, okuva ku muvule ogw'oku Lebanooni, okutuuka ku yisopu, akamera ku bisenge. Yayogera ne ku nsolo, ne ku binyonyi, ne ku byewalula era ne ku byennyanja. Bakabaka ab'ensi zonna ne bawulira ku magezi ge, ne batuma abantu okumuwuliriza. Awo Kabaka Hiraamu ow'e Tiiro bwe yawulira nga bafuse ku Solomooni omuzigo okusikira Dawudi kitaawe ku bwakabaka, n'amutumira abaweereza be, kubanga Hiraamu okuva edda yali mukwano gwa Dawudi. Solomooni n'atumira Hiraamu ng'agamba nti: “Omanyi nga kitange Dawudi, olw'entalo ze yalina okulwana n'ensi z'abalabe ezaali zimwetoolodde enjuyi zonna, teyasobola kuzimbira Mukama, Katonda we Ssinzizo, okutuusa nga Mukama amaze okumusobozesa okuwangula abalabe be bonna. Naye kaakano Mukama, Katonda wange ampadde emirembe ku njuyi zonna, tewali mulabe wadde akabi akajja. Kyenvudde nsalawo okuzimbira Mukama, Katonda wange Essinzizo, nga Mukama bwe yagamba kitange Dawudi nti: ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe yo ey'obwakabaka n'akusikira, ye alinzimbira Essinzizo.’ Kale kaakano lagira bantemere emivule ku Lusozi Lebanooni. Abaweereza bange banaakolera wamu n'ababo. Abaweereza bo nja kubawa empeera ggwe gy'onooyagala mbawe. Nga bw'omanyi, eno ewaffe tetulina bamanyi kutema miti nga Basidoni.” Awo Hiraamu bwe yafuna obubaka bwa Solomooni, n'asanyuka nnyo, n'agamba nti: “Mukama olwaleero yeebazibwe, eyawa Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu.” Awo Hiraamu n'aweereza Solomooni obubaka nti: “Obubaka bw'ontumidde mbufunye. Ku by'emiti emivule n'emiberosi, nja kukukolera byonna nga bw'oyagala. Abaweereza bange baligiggya ku Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja. Ndigisiba wamu ng'ebibaya okugiyisa ku nnyanja, gigobe mu kifo ky'olindaga. Ndiragira ne bagisumululira eyo, n'olyoka ogiggyayo. Ggwe kye njagala okole, kwe kufunira abantu bange emmere.” Awo Hiraamu n'awa Solomooni emiti gyonna egy'emivule n'emiberosi Solomooni gye yayagala. Buli mwaka Solomooni n'awanga Hiraamu kilo z'eŋŋaano obukadde buna mu emitwalo amakumi ana, n'omuzigo gw'emizayiti omulungi, lita enkumi nnya mu bina, okuliisa abantu be. Mukama n'awa Solomooni amagezi nga bwe yasuubiza. Hiraamu ne Solomooni ne baba mirembe, ne bakola endagaano wakati waabwe bombi. Awo Kabaka Solomooni n'alagira ne bakuŋŋaanya mu Yisirayeli yonna abasajja emitwalo esatu ab'okukola omulimu. N'aweerezanga e Lebanooni abasajja omutwalo gumu gumu buli mwezi mu mpalo. Baamalanga omwezi gumu ku Lebanooni, ne bamala emyezi ebiri ewaabwe. Adoniraamu ye yakulira abaakuŋŋaanyizibwa okukola omulimu. Solomooni era yalina abasajja emitwalo musanvu abeetissi, n'abalala emitwalo munaana abaayasanga amayinja mu nsozi. Yateekawo n'abaami enkumi ssatu mu bisatu okulabirira omulimu n'okukulira abakozi. Kabaka n'alagira ne baasa era ne boola amayinja amanene era amalungi ddala, nga ga kuzimbisa omusingi gw'Essinzizo. Abazimbi aba Solomooni n'aba Hiraamu, n'abasajja abaava e Gebali ne boola amayinja ago, era ne bakomola emiti ne bagitegeka wamu n'amayinja gali, okuzimba Essinzizo. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ebikumi ebina mu ekinaana ng'Abayisirayeli bavudde mu nsi y'e Misiri, mu mwaka ogwokuna okuva Solomooni lwe yatandika okufuga Yisirayeli, mu mwezi Ziivu, gwe mwezi ogwokubiri mu mwaka, Solomooni n'atandika okuzimba Essinzizo. Essinzizo Kabaka Solomooni lye yazimbira Mukama lyali mita amakumi abiri mu musanvu obuwanvu, mita mwenda obugazi, ne mita kkumi na ssatu n'ekitundu obugulumivu. N'ekisasi mu maaso g'Essinzizo kyali mita mwenda obuwanvu, okwenkanankana n'obugazi bw'Essinzizo, ne mita nnya n'ekitundu obugazi. N'akolera Essinzizo amadirisa ag'embaawo enkomereremu ezitaggulwa. Ku kisenge eky'ebweru mu mbiriizi n'emabega w'Essinzizo, n'azimbako ekizimbe kya kalina ssatu ekikookeddwako okulyetooloola. Buli kisenge mu kalina eyaawansi kyalina obugazi bwa mita bbiri n'obutundu bubiri. Mu kalina eyookubiri buli kisenge kyalina obugazi bwa mita bbiri n'obutundu musanvu, ne mu kalina eyookusatu, obugazi bwa mita ssatu n'akatundu kamu. Ekisenge ky'Essinzizo ku buli kalina kyagendanga kitoniwa mu buzimbu bwakyo, okusinga ku kalina eya wansi, obusenge obuzimbiddwa busobole okwesigama ku kisenge kiri, ng'emiti gyabwo tegizimbiddwa mu kyo. Essinzizo bwe baali balizimba, amayinja ge baazimbisa gaalongooserezebwanga mu kifo gye baagaasiza, era tewaali nnyondo wadde embazzi oba ekintu ekirala kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu Ssinzizo nga balizimba. Oluggi oluyitibwamu okuyingira mu bisenge ebya wansi ebyazimbibwa ku mabbali g'Essinzizo, lwali ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo. Waaliwo amadaala ageenyoolanyoola agaalinnyirwangako okugenda mu bisenge eby'omu kalina esooka n'eyookubiri. Kabaka Solomooni bw'atyo bwe yazimba Essinzizo, n'alimaliriza ng'aliseresezza emiti n'embaawo ez'emivule. N'azimba ennyumba eya kalina ssatu okwetooloola Essinzizo, buli kalina nga ya bugulumivu bwa mita bbiri n'obutundu bubiri, nga ziyungiddwa ku Ssinzizo n'emiti egy'emivule. Mukama n'agamba Solomooni nti: “Ozimba Essinzizo lino, kale bw'onookwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange, n'okoleranga ku bye nakuutira, olwo ndituukiriza kye nasuubiza kitaawo Dawudi nti ndikimukolera. Era nnaabeeranga wamu n'Abayisirayeli, era siibaabulirenga.” Awo Solomooni n'azimba Essinzizo, n'alimaliriza. Ebisenge by'Essinzizo wonna munda, n'abibikkako embaawo ez'emivule, wansi n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi. Munda w'Essinzizo mu kitundu eky'emabega n'azimbayo ekisenge eky'embaawo ez'emivule okuva wansi okutuukira ddala waggulu, bw'atyo n'ayawula ku Ssinzizo ekifo kya mita mwenda obuwanvu n'obugazi, ekyo nga kye kifo Ekitukuvu Ennyo. Mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ekitundu ky'Essinzizo ekisigaddewo kyali kya mita kkumi na munaana obuwanvu. Embaawo ze baabikkisa ebisenge zaali zooleddwako ebifaananyi by'ekiryo, n'ebimuli ebyanjuluzza. Munda wonna ebisenge byali bibikkiddwako embaawo ez'emivule, ng'amayinja ge baazimbisa tegalabika. N'ategeka Ekifo Ekitukuvu Ennyo, okuteekamu Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama. Ekifo kino Ekitukuvu Ennyo kyali mita mwenda obuwanvu, mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu, n'akibikkako zaabu omulongoose, alutaari n'agibikkako embaawo ez'emivule. Essinzizo lyonna munda n'alibikkako zaabu omulongoose, n'atimba emikuufu egya zaabu awayingirirwa mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, nga nakyo kibikkiddwako zaabu. Essinzizo lyonna n'alibikkako zaabu okulibunya, era ne alutaari yonna ey'omu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'agibikkako zaabu. Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, n'ateekamu bakerubi babiri ababajjiddwa mu miti emizayiti, nga buli kerubi wa mita nnya n'ekitundu obuwanvu. Ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi kyali kiweza mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu. Okuva ekiwaawaatiro ekimu we kikoma n'okutuuka ekiwaawaatiro ekirala we kikoma, ebbanga lyali lya mita nnya n'ekitundu. Ne kerubi omulala yali aweza mita nnya n'ekitundu obuwanvu. Bakerubi bombi baali benkana era nga bafaanagana. Kerubi omu yali aweza mita nnya n'ekitundu obugulumivu ne munne owookubiri bw'atyo. Bakerubi abo n'abateeka mu makkati g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo. Bakerubi abo baali banjuluzza ebiwaawaatiro byabwe, ekiwaawaatiro kya kerubi omu nga kituuka ku kisenge eky'oludda olumu, n'ekiwaawaatiro kya kerubi omulala nga kituuka ku kisenge eky'oludda olulala, ebiwaawaatiro byabwe ebirala nga bikwataganira wakati w'Ekifo Ekitukuvu Ennyo. Bakerubi bombi n'ababikkako zaabu. Solomooni n'ayola ku bisenge by'Ekifo Ekitukuvu Ennyo n'eby'Essinzizo lyonna ebifaananyi ebya bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza. Wansi mu Kifo Ekitukuvu Ennyo ne mu Ssinzizo lyonna n'abikkawo zaabu. Mu mulyango oguyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'awangamu oluggi olw'omuti omuzayiti, ng'omwango gwalwo gwa nsonda ttaano, omusongovu ku ludda olwa waggulu. Ebiwayi by'oluggi olwo byombi n'abyolako ebifaananyi bya bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza, n'azibikkako zaabu, zo, ne bakerubi, n'enkindu. Era n'akolera omulyango gwa wankaaki w'Essinzizo, omwango ogw'omuti omuzayiti gwa nsonda nnya, n'enzigi bbiri ez'omuti omuberosi nga buli lumu lwa biwayi bibiri, nga byombi biggulwa. N'ayolako bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza, byonna ne bibikkibwako zaabu, nga bakola n'obwegendereza. N'azimba oluggya olwomunda lwa mbu ssatu ez'amayinja amakomole, n'olubu lumu olw'emiti egy'omuvule. Omusingi gw'Essinzizo gwazimbibwa mu mwezi ogwokubiri, gwe mwezi Ziivu, mu mwaka ogwokuna ogw'obufuzi bwa Solomooni. Mu mwezi ogw'omunaana, gwe mwezi Buuli, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obufuzi bwa Solomooni, Essinzizo lyonna ne liggwa okuzimbibwa, ng'entegeka yaalyo bwe yali. Solomooni lyamutwalira emyaka musanvu okulizimba. Solomooni ne yeezimbira olubiri, olwo ne lumutwalira emyaka kkumi n'esatu okulumaliriza. Yazimba ennyumba eyitibwa Ekibira kya Lebanooni, nga ya mita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obugazi, ne mita kkumi na ssatu n'ekitundu obugulumivu. Yagizimbira ku mbu ssatu ez'empagi ez'emivule, okuteekeddwa emikiikiro era egy'omuvule. Waggulu w'ebisenge ebyazimbibwa ku mpagi amakumi ana mu ettaano, kkumi na ttano mu buli lubu, ne wabikkibwako embaawo ez'omuvule. Embu z'amadirisa zaali ssatu nga gatunuuliganye, era nga gali mu nnyiriri ssatu. Emiryango gyonna n'emyango gyazo gyali gya njuyi nnya nnya ezenkanankana, n'amadirisa gaali mu nnyiriri ssatu, nga buli ddirisa ery'oludda olumu litunudde mu ddirisa ery'oludda olulala. N'azimba ennyumba eyayitibwa Ennyumba Ey'empagi, nga ya mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne mita kkumi na ssatu n'ekitundu obugazi, ng'erina ekisasi ekisereke, ekiwaniriddwa empagi. N'azimba Ennyumba y'Entebe y'Obwakabaka, era eyatuumibwa Ekitawuluzi mw'aba asaliranga emisango. Nagibikkako embaawo ez'omuvule wonna wonna munda. Ennyumba Solomooni mwe yasulanga yali mu luggya lulala olwali emmanju w'Ekitawuluzi. Enzimba yaayo yali ye emu n'ey'Ennyumba y'Emisango. Solomooni n'azimbira ne mukazi we, muwala wa kabaka w'e Misiri, ennyumba efaanana ng'eyo. Amayumba ago gonna ng'otwaliddemu n'oluggya olunene, gaazimbibwa na mayinja amalungi ddala, okuva mu musingi okutuukira ddala waggulu ebisenge gye bikoma. Gaasalwa n'emisumeeno mu kigero kyago kye baagapimira, ne gayooyootebwa ku ludda olwomunda n'olw'ebweru. Omusingi nagwo gwazimbibwa n'amayinja amalungi ddala, era agamu nga ga mita nnya n'ekitundu, amalala nga ga mita ssatu n'obutundu mukaaga. Kungulu w'amayinja ago, kwaliko amayinja amalala era amalungi ddala amakomole mu bipimo byago, era n'embaawo ez'emivule. Oluggya olunene lwali lwetooloddwa ekigo ekizimbiddwa mu mbu ssatu ez'amayinja amakomole, n'olubu lumu olw'embaawo ez'omuvule. N'oluggya olwomunda olw'Essinzizo, n'ekisasi kyalyo, bwe byazimbibwa bwe bityo. Kabaka Solomooni n'atumya Hiraamu, ne bamuggya e Tiiro. Hiraamu oyo yali musajja mugezi era nga mukugu, amanyi okutetenkanya mu mirimu gyonna egy'okuweesa ekikomo. Yali mutabani wa nnamwandu ow'omu Kika kya Nafutaali. Kitaawe yali mutuuze w'e Tiiro, era nga muweesi wa bintu eby'ekikomo. Hiraamu oyo n'akkiriza n'ajja eri Kabaka Solomooni, n'amukolera omulimu gwe gwonna. Hiraamu n'aweesa empagi bbiri ez'ekikomo nga buli emu epimwako omuguwa gwa mita ttaano n'obutundu buna okugyetooloola. N'akola emitwe ebiri egy'ekikomo ekisaanuuse, egy'okuteeka ku ntikko z'empagi ezo ebbiri, nga buli mutwe obugulumivu bwagwo bwa mita bbiri n'obutundu nga bubiri. Ku mutwe ogwali ku ntikko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi musanvu eby'emikuufu egirukiddwa ng'akatimba, era n'akolako n'embu bbiri ez'ebifaananyi by'amakomamawanga. Emitwe ku ntikko z'empagi ez'omu kisasi gyali gifaanana ng'ebimuli by'amalanga, era obugulumivu bwagyo nga bwa mita emu n'obutundu munaana, ng'emitwe egyo giteereddwa mu kitundu ekyekulungirivu ku mpagi zombi waggulu w'ekifaananyi eky'akatimba. Ku buli mutwe kwaliko ebifaananyi by'amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu bbiri. Hiraamu n'asimba empagi ezo zombi mu maaso g'ekisasi ky'Essinzizo. N'asimba ey'oku ludda olwa ddyo, n'agituuma erinnya Yakini, n'asimba ey'oku ludda olwa kkono, n'agituuma erinnya Bowaazi. Ku ntikko z'empagi ezo kwali kukoleddwako ebifaananyi by'ebimuli by'amalanga. Bwe gutyo omulimu ogw'okukola empagi ne gumalirizibwa. Hiraamu n'aweesa ogutanka gw'amazzi ogunene ogwekulungirivu ogw'ekikomo, nga gwa mita nnya n'ekitundu obukiika okuva ku mugo okutuuka ku mugo. Obugulumivu bwagwo bwali mita bbiri n'obutundu nga busatu, era nga guweza mita kkumi na ssatu n'ekitundu okugwetooloola. Wansi w'omugo gw'ogutanka ogwo, waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi by'ekiryo ezaaweesebwa awamu n'ogutanka, obuwanvu bwazo mita nnya n'ekitundu okugwetooloola. Ogutanka ogwo ogunene gwatuuzibwa ku bifaananyi by'ente kkumi na bibiri eby'ekikomo, ebitunuulidde ebweru: ebisatu nga bitunuulidde mu bukiikakkono, ebisatu ebugwanjuba, ebisatu mu bukiikaddyo, n'ebisatu ebuvanjuba, emikira gyabyo nga giri munda. Omubiri gw'ogutanka ogunene gwali gwa luta lumu. Omugo gwagwo gwali gukoleddwa ng'ogw'ekibya era ng'ekimuli ky'amalanga. Ogutanka ogwo gwali gugyamu lita emitwalo ng'ena mu enkumi nnya. Hiraamu n'akola ebituuti kkumi eby'ekikomo nga buli kimu kya buwanvu bwa mita emu n'obutundu munaana, obugazi bwa mita emu n'obutundu munaana n'obugulumivu bwa mita emu n'obutundu busatu. Byali bikoleddwa mu mbaati ezenkanankana enjuyi zonna ennya, nga ziteekeddwa mu fuleemu. Ku mbaati ezo ezaali mu fuleemu, kwaliko ebifaananyi by'empologoma n'ente ne bakerubi. Ne ku fuleemu kwaliko waggulu ekitereezebwako ebintu, ne wansi w'ebifaananyi by'empologoma n'ente waaliwo emige gy'ebimuli egireebeeta. Buli kituuti kyalina nnamuziga nnya ez'ekikomo, n'ebyuma kwe zeetooloolera, nga bya kikomo. Ku nsonda zaakyo ennya, kwaliko ekitereezebwako ebbenseni. Ebyo ebitereezebwako ebbenseni byali byoleddwako ebifaananyi by'emige gy'ebimuli. Waggulu ku mutwe, waaliwo ekituli ekitereezebwamu ebbenseni, nga kya sentimita amakumi ana mu ttaano obugulumivu, ne sentimita kkumi na munaana obwekulungirivu. Kyaliko enjola okwetooloola akamwa kaakyo. Embaati zaakyo zaalina enjuyi nnya ezenkanankana, nga si nneekulungirivu. Nnamuziga ennya zaali wansi w'embaati, ng'ebyuma kwe zeetooloolera biweeseddwa nga tebyawuddwa ku bikondo. Obugulumivu bwa nnamuziga, bwali sentimita nkaaga mu musanvu n'obutundu butaano. Nnamuziga ezo zaali zikoleddwa nga nnamuziga z'ebigaali ebikozesebwa mu ntalo. Ebyuma kwe zeetooloolera, n'empanka zaazo, n'empagi zaazo, n'emisingi gyazo, byonna byali bya kikomo. Mu nsonda zonna ennya eza buli kikondo, mwalimu emiziziko ena kwe kinywerera, nga giweeseddwa nga tegyawuddwa ku kituuti kyennyini. Ku ntikko y'ekituuti kwaliko ekintu ekyekulungirivu, nga kya sentimita amakumi abiri n'ekitundu. Empagi zaakyo n'embaati zaakyo byali biweeseddwa nga tebyawuddwa ku kituuti kyennyini. Ku bipande by'empagi zaakyo ne ku mbaati zaakyo, yayolako ebifaananyi bya bakerubi, n'empologoma, n'enkindu we bisobola okugya, n'emige gy'ebimuli okwetooloola wonna. Bw'atyo bwe yakola ebituuti ekkumi. Byonna byali biweeseddwa mu kikomo ekisaanuusiddwa, nga bifaanana, era nga byenkana mu bipimo ne mu ndabika. Hiraamu n'akola ebinaabirwamu kkumi eby'ekikomo, kimu kimu ku buli kituuti. Buli kinaabirwamu kyali kya mita emu n'obutundu munaana obukiika, okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nga kigyamu lita nga lunaana mu kinaana. N'ateeka ebituuti ebitaano ku ludda lw'Essinzizo olwa ddyo n'ebitaano ku ludda lwalyo olwa kkono. Ogutanka ogunene n'aguteeka mu nsonda y'Essinzizo ey'oku ludda olwa ddyo olw'ebuvanjuba. Hiraamu n'akola ebbenseni, n'ebisena n'ebbakuli ezikozesebwa mu kumansira. Bw'atyo n'amaliriza omulimu gwonna gwe yakolera Kabaka Solomooni mu Ssinzizo: empagi ebbiri, n'emitwe ebiri egikoleddwa ng'ebibya ku ntikko z'empagi ebbiri, n'ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko ya buli mpagi, n'ebifaananyi by'amakomamawanga ebikumi ebina ag'ekikomo, agateekeddwa mu mbu ebbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi, ebituuti ekkumi n'ebbenseni ekkumi ku bituuti ebyo, n'ogutanka ogunene, n'ebifaananyi by'ente ekkumi n'ebibiri kwe gutuuziddwa; n'entamu, n'ebisena, n'ebbakuli ezikozesebwa mu kumansira. Ebintu ebyo byonna Hiraamu bye yakolera Kabaka Solomooni bikozesebwenga mu Ssinzizo, byali bya kikomo ekizigule. Ebintu ebyo, kabaka yabiweeseza mu lusenyi lwa Yorudaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati w'ebibuga Sukkoti ne Zaretaani. Ebintu ebyo byonna Solomooni teyabipima buzito, kubanga byali bingi nnyo. N'olwekyo obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa tebwamanyika. Solomooni n'akola mu zaabu ebintu byonna eby'okukozesebwa mu Ssinzizo: alutaari n'emmeeza okuteekebwa emigaati egiweebwayo eri Katonda, ebikondo by'ettaala ebiteekebwa mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku ludda olwa kkono, nga bya zaabu omulongoose; n'ebimuli, n'ettaala, ne makansi, n'essowaani ennene, n'ebisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebbakuli ezikozesebwa mu kumansira, n'ebyoterezo n'ebyotereezebwamu obubaane, byali bya zaabu omulongoose, ne ppata z'enzigi ez'omu Kifo Ekitukuvu Ennyo, era n'ez'enzigi z'Essinzizo ez'ebweru, ebyo byonna byali bya zaabu. Bwe gutyo omulimu gwonna Kabaka Solomooni gwe yakola mu Ssinzizo ne guggwa. Solomooni n'ayingiza mu mawanika g'Essinzizo ebintu byonna Dawudi kitaawe bye yawongera Mukama: ffeeza, ne zaabu, n'ebikozesebwa byonna. Awo Kabaka Solomooni n'ayita abakulembeze b'omu Yisirayeli, abakulu b'ebika, n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, okujja gy'ali e Yerusaalemu, bagende baggye Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Siyooni. Abasajja Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Solomooni ku Mbaga ey'Ensiisira, mu mwezi Etaniimu, gwe mwezi ogw'omusanvu. Abakulu b'omu Yisirayeli bonna bwe bajja, bakabona ne basitula Essanduuko ey'Endagaano, ne bagitwala mu Ssinzizo. Bakabona n'Abaleevi, Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama nayo ne bagitwala mu Ssinzizo, awamu n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu. Kabaka Solomooni n'Abayisirayeli bonna abaali bakuŋŋaanidde w'ali ne babeera mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, ne batambira ente n'endiga nnyingi nnyo, ezitayinza kubalika. Awo bakabona ne baleeta mu Ssinzizo, Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, ne bagiteeka mu kifo kyayo munda mu Ssinzizo, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi. Ebiwaawaatiro bya bakerubi ebyagaagavu, ne bibikka Essanduuko n'emiti kw'esitulirwa. Emiti egyo gyali miwanvu, ng'omuntu ayimiridde munda mu Ssinzizo, mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo, asobola okulaba entwe zaagyo, naye nga tezirabibwa ali bweru. Emiti egyo gikyaliyo n'okutuusa kati. Mu Ssanduuko ey'Endagaano temwalimu kintu kirala, wabula ebipande by'amayinja ebibiri, Musa bye yateekeramu ku Lusozi Horebu, Mukama bwe yakola endagaano n'Abayisirayeli, nga bavudde mu nsi y'e Misiri. Awo bakabona bwe baamala okuva mu Kifo Ekitukuvu, ekire ne kijjula mu Ssinzizo, bakabona ne batayinza kuyingiramu okuweereza olw'ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjuza Essinzizo. Awo Solomooni n'agamba nti: “Mukama yagamba nti anaabeeranga mu kizikiza ekikutte. Mazima nkuzimbidde Essinzizo ery'ekitiibwa libe ekifo mw'onoobeeranga ennaku zonna.” Awo kabaka n'akyuka, n'atunuulira ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ekyali kiyimiridde awo, n'akisabira omukisa. N'agamba nti: “Mutendereze Mukama, Katonda wa Yisirayeli atuukirizza kye yasuubiza kitange Dawudi, bwe yagamba nti: ‘Kasookedde nzigya bantu bange Abayisirayeli mu Misiri, seerobozanga mu bika bya Yisirayeli byonna kibuga na kimu mwe bananzimbira Ssinzizo. Naye neeroboza Dawudi akulembere abantu bange Abayisirayeli.’ “Kitange Dawudi yalowooza okuzimbira Mukama, Katonda wa Yisirayeli Essinzizo. Kyokka Mukama n'agamba kitange Dawudi nti: ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira Essinzizo. Naye si ggwe ojja okulizimba, wabula mutabani wo, ggwe wennyini gw'ozaala, ye alinzimbira Essinzizo.’ “Kaakano Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nsikidde kitange Dawudi, ne ntuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Essinzizo. Nditaddemu ekifo ky'Essanduuko erimu Endagaano, Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.” Solomooni n'ayimirira mu maaso ga alutaari ya Mukama, ng'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli kiri awo, n'agolola emikono gye eri eggulu, n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu ne mu nsi tewaliiyo Lubaale ali nga ggwe, akuuma endagaano gy'okola n'abantu bo, era abakwatirwa ekisa bwe bakunywererako n'omutima gwabwe gwonna. Wakuuma ekyo kye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi. Ggwe wakimusuubiza wennyini, era olwaleero okituukirizza. Kale kaakano Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi, bwe wagamba nti: ‘Mu b'ezzadde lyo, toobulwengamu musajja gwe nteekawo okutuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, kasita ab'ezzadde lyo abo, banassangayo omwoyo okuyisa obulungi, ne bannywererako, nga ggwe bwe wakola.’ Kale nno ayi Katonda wa Yisirayeli, nkwegayiridde, tuukiriza ekigambo kyo, kye wagamba omuweereza wo kitange Dawudi. “Naye ddala, ayi Katonda, oyinza okubeera ku nsi? Olaba n'eggulu lyennyini liba ffunda n'otogyamu, kale onoogya otya mu Ssinzizo lino lye nzimbye! Wabula, Katonda wange, ssaayo omwoyo ku kye nkusaba era wulira okwegayirira n'okukaaba kwange nze omuweereza wo, ompe kye nkusaba olwaleero. Amaaso go togaggya ku Ssinzizo lino emisana n'ekiro, ekifo kye wayogerako nti: ‘Omwo mwe banansinzizanga.’ Owulirenga bye nnaakusabanga nze omuweereza wo, nga ntunuulidde Essinzizo lino. Era owulirenga bye nkusaba nze omuweereza wo, era n'abantu bo Abayisirayeli bye banaakusabanga nga batunuulidde ekifo kino. Ddala otuwulire ng'osinziira mu ggulu eyo gy'obeera, era bw'owulira, osonyiwe. “Omuntu bwe banaamulumirizanga nti yazza omusango ku munne, ne baagala okumulayiza okukakasa oba nga talina musango, omuntu oyo n'ajja n'alayirira wano mu maaso ga alutaari yo mu Ssinzizo lino, mu ggulu eyo gy'oli, owuliranga n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango. “Abantu bo Abayisirayeli bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okukunyiiza, naye ne badda gy'oli ne bakwenenyeza, ne basaba nga beegayirira mu maaso go mu Ssinzizo lino, eyo gy'oli mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abantu bo Abayisirayeli, n'obakomyawo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe. “Eggulu bwe lineesibanga enkuba n'etetonnya kubanga abantu bakoze ebibi ne bakunyiiza, naye oluvannyuma ne bakwegayirira nga batunuulidde ekifo kino, ne bakwenenyeza, ne balekayo ebibi byabwe ng'omaze okubabonereza, eyo gy'oli mu ggulu owuliranga n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo, era abantu bo Abayisirayeli, n'obayigirizanga okukola ebituufu. Olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo eno, gye wawa abantu bo okuba eyaabwe emirembe gyonna. “Mu nsi bwe munaagwangamu enjala, oba bwe munaabangamu endwadde ya kawumpuli, oba ebirime bwe binaagengewalanga, oba ne bikukula, oba ne byonoonebwa enzige oba ebisaanyi; oba abalabe bwe banaalumbanga abantu bo mu bibuga byabwe, oba bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okwa buli ngeri, abantu bo Abayisirayeli ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira, eyo mu ggulu gy'obeera, obawuliranga era obasonyiwanga. Buli omu omukoleranga ku bibye nga bw'asaanira, kubanga ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abantu, balyoke bakussengamu ekitiibwa ebbanga lyonna lye balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe. “Omugwira atabeera mu bantu bo Abayisirayeli, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala ng'awulidde obukulu bwo, kubanga baliwulira obukulu bwo n'obuyinza bwo n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'akusinza ng'atunuulidde Essinzizo lino, eyo mu ggulu gy'obeera, owuliranga by'akusaba okumukolera, olwo abantu bonna mu nsi balyoke bakumanye era bakuwulire ng'abantu bo Abayisirayeli bwe bakuwulira, era bamanye nti Essinzizo lino lye nzimbye kye kifo eky'okukusinzizangamu. “Abantu bo bwe banaagendanga gy'onoobanga obatumye okulwanyisa abalabe baabwe, ne babaako kye bakusaba nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, era nga batunuulidde Essinzizo lino lye nkuzimbidde, owuliranga bye bakusaba. Owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira ng'osinziira mu ggulu. “Abantu bo bwe banaakolanga ebibi ne bakunyiiza, nga bwe watali atakola kibi, n'obasunguwalira era n'oleka abalabe baabwe okubawangula ne babatwala mu nsi eri okumpi oba ewala, naye bwe baneerowoozanga nga bali eyo mu nsi gye batwaliddwa nga basibe, ne beenenya, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Twayonoona, twawaba, era twakola ebitasaana, bwe baneenenyezanga ddala mu mazima nga bali eyo mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne babaako kye bakusaba nga batunuulidde ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe,’ era nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza, era n'Essinzizo lino lye nkuzimbidde, kale owuliranga bye bakusaba. Eyo mu ggulu gy'obeera, owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira, n'osonyiwa abantu bo abakoze ebibi ne bakunyiiza, n'obawa okusaasirwa abo abaabatwala nga basibe, babakwatirwe ekisa, kubanga be bantu bo, ababo ku bubwo, be waggya mu Misiri, mu kabiga k'omuliro, ak'ekyuma. “Tunuulizanga bulijjo omuweereza wo, n'abantu bo Abayisirayeli amaaso ag'ekisa, era owulirenga okwegayirira kwabwe nga bakukoowoola okubayamba. Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi, okuba ababo ku bubwo, nga bwe wagamba ng'oyita mu Musa omuweereza wo, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ayi Mukama, Katonda.” Solomooni bwe yamala okusaba Mukama ebyo byonna n'okumwegayirira, n'asituka mu maaso ga alutaari ya Mukama, we yali afukamidde ng'agolodde emikono gye eri eggulu. N'ayimirira, n'asabira ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli omukisa mu ddoboozi ery'omwanguka, ng'agamba nti: “Mukama awadde abantu be Abayisirayeli emirembe nga bwe yasuubiza, atenderezebwe. Tewali na kimu kibuze ku birungi bye yasuubiza ng'ayita mu Musa omuweereza we. Mukama, Katonda waffe abeerenga wamu naffe, nga bwe yabanga awamu ne bajjajjaffe, alemenga okutuleka, wadde okutwabulira. Akyuse emitima gyaffe agizze gy'ali, tulyoke tumunywererengako bulijjo era tukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye ne by'akuutira, bye yawa bajjajjaffe. Ebigambo byange bino bye njogedde nga neegayirira mu maaso ga Mukama, Mukama Katonda waffe abijjukirenga emisana n'ekiro, akwatirwenga abantu be Abayisirayeli n'omuweereza we kabaka waabwe, ekisa, mu byetaago byabwe buli lunaku, abantu ab'omu mawanga gonna ku nsi balyoke bamanye nga Mukama ye Katonda yekka, tewali mulala. Kale mmwe abantu be mubeerenga beesigwa eri Mukama, Katonda waffe, mukolerenga ku mateeka ge, era mukwatenga ebiragiro bye, nga bwe mukola kaakano.” Awo Kabaka Solomooni wamu n'Abayisirayeli bonna abaali naye, ne bawaayo ebitambiro eri Mukama. Solomooni n'awaayo ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri, okuba ekitambiro eky'ebiweebwayo olw'okutabagana. Ku lunaku olwo, kabaka n'atukuza oluggya olwawakati olwali mu maaso g'Essinzizo, kubanga eyo gye yaweerayo ebitambiro ebyokebwa nga biramba, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'amasavu agaava ku biweebwayo olw'okutabagana. Ebitambiro ebyo yabiweerayo eyo, kubanga alutaari ey'ekikomo eyali mu maaso ga Mukama, yali ntono nnyo, ng'ebitambiro ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'amasavu g'ebiweebwayo olw'okutabagana, tebiyinza kugyako. Mu kiseera ekyo, Solomooni ng'ali wamu n'Abayisirayeli bonna, n'akola embaga mu maaso ga Mukama, Katonda waffe, gye baamalako ennaku musanvu, n'ennaku endala musanvu, ze nnaku kkumi na nnya. Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awayingirirwa e Hamati mu bukiikakkono, ne ku Kagga ak'ensalo ne Misiri, mu bukiikaddyo. Ku lunaku olw'omunaana, kabaka n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Abantu ne bamusabira omukisa, ne baddayo ewaabwe nga basanyufu, era nga bajaganya mu mitima gyabwe olw'ebirungi Mukama bye yali awadde Dawudi omuweereza we, n'abantu be Abayisirayeli. Awo olwatuuka, Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo n'olubiri, era bwe yamala okutuukiriza byonna bye yayagala okukola, Mukama n'amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibiyoni. Mukama n'amugamba nti: “Mpulidde by'onsabye, n'okwegayirira kwo ng'oli mu maaso gange. Ntukuzizza Essinzizo lino ly'onzimbidde, libe ery'okunsinzizangamu ennaku zonna. Nnaaliteekangako amaaso gange n'omutima gwange obutasalako. Naawe bw'ononnywererangako, n'oba mwesigwa era ow'amazima nga kitaawo Dawudi bwe yali, n'ogonderanga amateeka gange, era n'otuukirizanga byonna bye nakulagira, ndinyweza obwakabaka bwo emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza kitaawo Dawudi, bwe namugamba nti: ‘Mu b'ezzadde lyo, toobulwengamu musajja atuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli.’ Naye bwe mulinvaako, mmwe, oba abaana bammwe ne bazzukulu bammwe, ne mujeemera amateeka gange n'ebiragiro bye mbawadde, ne muweereza balubaale era ne mubasinza, olwo ndiggya Abayisirayeli mu nsi gye mbawadde, era ndyabulira Essinzizo lino lye ntukuzizza bansinzizengamu. Yisirayeli erifuuka eky'okufumwako enfumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna. Essinzizo lino newaakubadde ligulumivu bwe liti, naye buli anaaliyitangako, aneewuunyanga n'akwata ku mumwa ne yeesooza. Era banaabuuzanga nti: ‘Lwaki Mukama yakola bw'atyo ensi eno n'Essinzizo lino?’ Abantu banaddangamu nti: ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne beewa balubaale ne babasinza era ne babaweereza. Mukama kyavudde abatuusaako akabi akenkanidde awo.’ ” Awo olwatuuka, emyaka amakumi abiri Solomooni gye yazimbiramu ebizimbe byombi, Essinzizo n'olubiri lwe, bwe gyaggwaako, Kabaka Solomooni n'awa Kabaka Hiraamu ebibuga amakumi abiri, mu kitundu ky'e Galilaaya. Hiraamu oyo kabaka w'e Tiiro ye yayamba Solomooni okufuna byonna bye yayagala okuzimbisa: emivule, n'emiberosi, ne zaabu. Awo Hiraamu n'ava e Tiiro, n'agenda okulambula ebibuga Solomooni bye yamuwa, byamuwadde, n'atabisiima. N'agamba Solomooni nti: “Bibuga nnabaki bino by'ompadde, muganda wange?” Okuva olwo ne biyitibwa “Kabuli” n'okutuusa kati. Hiraamu yali aweerezza Kabaka Solomooni zaabu aweza talanta kikumi mu abiri. Gino gye mirimu egy'obuwaze Kabaka Solomooni gye yakozesa abantu: okuzimba Essinzizo n'olubiri lwe, n'ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda ekiyitibwa Millo, n'okuzimba ekigo kya Yerusaalemu, n'okuzimba ebibuga Hazori ne Megiddo ne Gezeri. Kabaka w'e Misiri yali alumbye Gezeri n'akiwamba, n'akyokya omuliro, n'atta Abakanaani abaakirimu, n'akiwa muwala we okuba omugabo gwe bwe yafumbirwa Solomooni. Solomooni n'akizimba buggya. Era n'azimba Beti-Horoni ekyawansi, ne Baalati ne Tamari mu nsi ey'eddungu eya Buyudaaya, n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu, n'ebibuga by'amagaali ge, n'ebibuga by'abasajja be abeebagala embalaasi, n'ebyo byonna Solomooni bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemu ne mu Lebanooni, n'awalala mu matwale ge gonna. Abantu bonna abaasigalawo ku Baamori, ne ku Bahiiti, ne ku Baperezi, ne ku Bahiivi, ne ku Bayebusi, kwe kugamba abo abatali Bayisirayeli, bazzukulu baabwe abaabaddira mu bigere mu nsi eyo, Abayisirayeli be bataayinza kusaanyizaawo ddala, abo Solomooni be yakozesa emirimu egy'obuwaze, era be bagikola ne leero. Naye Solomooni talina n'omu ku Bayisirayeli gwe yafuula muddu, wabula baabanga balwanyi mu ntalo, na baweereza be, na baami, na bakulu mu magye ge, na bafuzi ba magaali ge, era na basajja be abeebagala embalaasi. Waaliwo abaami ebikumi bitaano mu ataano abaakuliranga abantu abaakolanga n'obuwaze emirimu gya Solomooni. Muwala wa kabaka w'e Misiri bwe yamala okuva mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka mu lubiri lwe, Solomooni lwe yamuzimbira, olwo Solomooni n'azimba ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo. Emirundi esatu buli mwaka, Solomooni n'awangayo, ku alutaari gye yazimbira Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Era n'anyookerezanga obubaane ku alutaari eyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamaliriza Essinzizo. Kabaka Solomooni n'azimba empingu y'amaato mu Eziyonigeberi ekiriraanye Eloti, ku lubalama lw'Ennyanja Emmyufu, mu nsi y'e Edomu. Kabaka Hiraamu n'aweereza abamu ku balunnyanja be abamanyi ennyo ennyanja bakolere wamu n'abasajja ba Solomooni. Ne bagenda e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta ebikumi bina mu abiri, ne bamuleeta eri Kabaka Solomooni. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumu lya Solomooni eryamuweebwa Mukama, n'ajja amugeze ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu. Yajja e Yerusaalemu n'ekibiina ky'abaweereza be kinene nnyo, n'eŋŋamiya ezeetisse ebyakaloosa ne zaabu mungi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Awo bwe yatuuka ewa Solomooni, n'amubuuza byonna bye yalina ku mutima gwe. Solomooni n'amuddamu byonna bye yamubuuza. Tewali kintu na kimu kyakaluubirira Solomooni kunnyonnyola. Kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Solomooni, n'olubiri Solomooni lwe yazimba, n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, ennyambala yaabwe, n'abasenero be, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba bye yawangayo mu Ssinzizo, ne yeewuunya nnyo n'awuniikirira. N'agamba kabaka nti: “Bye nawulira nga ndi mu nsi yange ku bikolwa byo ne ku magezi go, byali bituufu. Naye saabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'agange. Era ddala bye nawulira tebyenkana wadde ekimu ekyokubiri eky'ebyo bye ndabye. Amagezi n'obugagga by'olina bisinga ettutumu lye nawulira ku byo. Abasajja bo nga balina omukisa! Abaweereza bo nga beesiimye, ababeera bulijjo mu maaso go, ne bawulira eby'amagezi by'oyogera! Mukama, Katonda wo atenderezebwe, eyalaga bw'akusiimye, n'akufuula kabaka wa Yisirayeli. Kubanga Mukama yayagala nnyo Yisirayeli, kyeyava akufuula kabaka, olamulenga mu mazima ne mu bwenkanya.” Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri. N'amutonera n'ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Era tewaddayo kubaawo byakaloosa byenkana awo obungi ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Seeba bye yatonera Kabaka Solomooni. N'empingu ya Hiraamu eyaleeta zaabu okuva mu Ofiri, n'ereeta embaawo ez'emitoogo, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Kabaka n'akozesa embaawo ezo okuzimba obukomera ku madaala ag'omu Ssinzizo, n'ag'omu lubiri lwe. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Tewaayongera kujja mbaawo za mitoogo ziri ng'ezo, wadde okulabibwako mu Yisirayeli n'okutuusa kati. Awo Kabaka Solomooni n'awa kabaka omukazi ow'e Seeba byonna kabaka oyo omukazi bye yayagala, na buli kye yasaba, nga tobaliddeeko ebyo Kabaka Solomooni bye yayiiya ku bubwe okumuwa. Olwo kabaka oyo omukazi ow'e Seba n'asiibula, n'addayo mu nsi ye, wamu n'abaweereza be. Zaabu Solomooni gwe yafunanga omwaka, yawezanga kilo ng'emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, nga tobaliddeeko oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi, n'empooza ku bitundibwa, n'oyo eyavanga mu bakabaka bonna ab'e Buwarabu, ne mu bafuzi b'ebitundu mu Yisirayeli. Kabaka Solomooni n'aweesesa engabo ennene ebikumi bibiri enkubireko zaabu, nga buli ngabo egendako zaabu azitowa kilo nga musanvu. N'aweesesa n'engabo entono ebikumi bisatu enkubireko zaabu, nga buli emu egendako zaabu azitowa kilo nga bbiri. Zonna n'aziteeka mu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni. Kabaka era ne yeekolera entebe ey'obwakabaka ennene ey'amasanga, n'agabikkako zaabu omulungi ennyo. Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe eyo ey'obwakabaka, era yali nneekulungirivu waggulu ekyesigamibwako gye kikoma. Yaliko ekiteekebwako emikono eruuyi n'eruuyi, nga ku buli ludda lw'ekiteekebwako emikono, waliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde. Waaliwo n'ebifaananyi ebirala, eby'empologoma kkumi na bbiri eziyimiridde, emu emu ku nkomerero ya buli ddaala erudda n'erudda w'amadaala ago omukaaga. Mu bwakabaka obulala bwonna, tewaaliyo ntebe ya bwakabaka eyakolebwa ng'efaanana ng'eyo. Ebintu byonna ebya Kabaka Solomooni eby'okunyweramu, byali bya zaabu. Era ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni, byali bya zaabu omulongoose. Tewaaliyo bya ffeeza. Mu biseera bya Solomooni, ffeeza teyayitibwanga kintu kya muwendo. Kabaka yalina ku nnyanja, empingu y'amaato eyagendanga e Tarusiisi n'empingu ya Hiraamu. Empingu eyo, buli myaka esatu yavanga e Tarusiisi ng'ereeta zaabu ne ffeeza n'amasanga, n'enkobe n'ennyonyi eziyitibwa muzinge. Bw'atyo Kabaka Solomooni n'asinga bakabaka bonna ku nsi obugagga n'amagezi. Ab'omu nsi yonna ne baagalanga okujja awali Solomooni okuwulira ebigambo eby'amagezi ge, Katonda ge yamuwa. Buli omu eyajjanga, ng'aleeta amakula: ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu, ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'ebyakaloosa, embalaasi n'ennyumbu. Ebyo byaleetebwanga buli mwaka. Solomooni n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagazi b'embalaasi. Yalina amagaali lukumi mu bina, n'abeebagazi b'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga ebikuumirwamu amagaali, ne mu Yerusaalemu, ye yennyini kabaka mwe yali. Mu biseera bye, ffeeza yayala mu Yerusaalemu, n'aba mungi ng'amayinja, n'emivule ne giba mingi ng'emiti emisikamoreya mu biwonvu. Embalaasi Solomooni ze yalina, zaggyibwanga mu Misiri, era abasuubuzi be baazifunangayo mu magana, nga buli ggana ligula omuwendo gwalyo. Eggaali erimu lyaggyibwanga mu Misiri ku bitundu lukaaga ebya ffeeza, n'embalaasi emu ku bitundu kikumi mu ataano. Bakabaka bonna ab'Abahiiti n'ab'e Siriya baazigulanga ku basuubuzi ba Solomooni abo. Kabaka Solomooni n'ayagala abakazi bangi abagwira, omwali ne muwala wa kabaka w'e Misiri, n'abakazi Abamowaabu, n'Abammoni, n'Abeedomu, n'Abasidoni, n'Abahiiti. Ku b'amawanga ago, Mukama yali agambye Abayisirayeli nti: “Temuufumbiriganwenga nabo, kubanga tebalirema kuwugula mitima gyammwe kusinza balubaale baabwe.” Solomooni ne yeegatta nabo, n'abaagala. Yalina abakazi lusanvu bakyala be, ne baganzi be ebikumi bisatu. Bakazi be abo ne bawugula omutima gwe. We yakaddiyira nga bakazi be bawugudde omutima gwe okusinza balubaale, ne gutanywerera ku Mukama, Katonda we, ng'ogwa Dawudi kitaawe bwe gwamunywererako. Kubanga Solomooni yasinza Asitoreeti lubaale omukazi ow'Abasidoni, ne Milukomu lubaale w'Abammoni eyeenyinyalwa. Solomooni n'akola ekibi n'anyiiza Mukama, n'atanywerera ku Mukama nga Dawudi kitaawe bwe yakola. Awo Solomooni n'azimba ku lusozi olwolekedde Yerusaalemu ekifo ekigulumivu eky'okusinzizaamu Kemosi lubaale w'Abamowaabu eyeenyinyalwa, n'ekya Moleki lubaale w'Abammoni era eyeenyinyalwa. Era bw'atyo bwe yakolera bakazi be bonna abagwira abaayoterezanga obubaane, era abaawangayo ebitambiro eri balubaale baabwe. Mukama n'asunguwalira Solomooni, kubanga Solomooni oyo yeggya ku Mukama, Katonda wa Yisirayeli, eyamulabikira emirundi ebiri, n'amukuutira alemenga kusinza balubaale, wabula Solomooni n'atakwata ekyo Mukama kye yamukuutira. Mukama kyeyava agamba Solomooni nti: “Nga bw'okoze ekyo n'ogaana okukuuma endagaano gye nakola naawe, era n'ojeemera amateeka ge nakuteerawo, mazima ndikuggyako obwakabaka ne mbuwa omu ku baweereza bo. Naye ku lwa kitaawo Dawudi, ekyo sirikikola ng'okyali mulamu, wabula ndibuggya ku mwana wo. Kyokka sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimulekera Ekika kimu ku lwa Dawudi omuweereza wange, ne ku lwa Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza.” Awo Mukama n'ayimusiza Solomooni omulabe ayitibwa Hadadi, omulangira w'e Edomu. Emabegako, Dawudi bwe yali mu Edomu, Yowaabu omuduumizi w'eggye n'agenda okuziika abattibwa, era n'atta buli musajja mu Edomu. Yowaabu n'Abayisirayeli bonna be yali nabo, baamalayo emyezi mukaaga, era mu kiseera ekyo, mwe battira buli musajja na buli mwana ow'obulenzi mu Edomu, okuggyako Hadadi n'abamu ku baweereza Abeedomu aba kitaawe, abadduka ne bagenda mu Misiri. Hadadi yali akyali mwana muto. Ne bava mu Midiyaani ne bagenda e Parani, gye baggya abasajja abamu, ne bagenda nabo e Misiri. Ne batuuka eri kabaka waayo. Ye n'awa Hadadi ekibanja n'ennyumba, era n'alagira bamuwenga ebyokulya. Hadadi n'aganja nnyo ewa kabaka w'e Misiri, era kabaka oyo n'awa Hadadi omukazi ow'okuwasa, nga ye muganda wa mukazi we yennyini, Nnaabagereka Tapaneesi. Muganda wa Tapaneesi n'azaalira Hadadi omwana ow'obulenzi Genubati. Tapaneesi n'akolera mu lubiri omukolo ogw'oku muggya ku mabeere. Genubati n'abeera mu lubiri lwa kabaka w'e Misiri wamu n'abaana ba kabaka. Awo Hadadi bwe yawulira mu Misiri nga Dawudi akisizza omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, era nga ne Yowaabu omuduumizi w'eggye afudde, n'agamba kabaka w'e Misiri nti: “Ka ŋŋende, nzireyo mu nsi y'ewaffe.” Kabaka n'amubuuza nti: “Kiki ky'ojula ng'oli nange, ekikwagaza okuddayo mu nsi y'ewammwe?” Hadadi n'addamu nti: “Tewali, naye era ndeka ŋŋende.” Awo Katonda era n'ayimusiza Solomooni omulabe omulala, Rezoni mutabani wa Eliyaada. Rezoni oyo yali adduse ku mukama we Hadadezeri, kabaka we Zoba. Dawudi bwe yatta ab'omu Zoba, Rezoni n'akuŋŋaanya abasajja, n'aba omukulu w'ekibinja kyabwe. Ne bagenda ne bamufuula kabaka mu Damasiko. N'aba mulabe wa Yisirayeli mu mulembe gwa Solomooni gwonna. Okwo kw'ogatta eby'obulabe Hadadi bye yakolanga, Rezoni n'akyawa Yisirayeli, ng'olwo ye kabaka wa Siriya. Ne Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ow'e Zereda mu Efurayimu, nnyina nga nnamwandu erinnya lye Zeruuwa, naye n'ajeemera Kabaka Solomooni, mukama we. Ekyaviirako Yerobowaamu okujeema kye kino: Kabaka Solomooni yazimba ebbibiro eriyitibwa Millo, n'aziba omuwaatwa ogwali mu kisenge ky'ekibuga kya Dawudi kitaawe. Omusajja oyo Yerobowaamu yali wa maanyi. Solomooni bwe yalaba ng'omuvubuka oyo akola na maanyi, n'amuwa okulabirira omulimu gwonna ogw'ab'ennyumba ya Yosefu. Awo olwatuuka, mu kiseera ekyo, Yerobowaamu bwe yali atambulako ng'ava e Yerusaalemu, omulanzi Ahiya ow'e Siilo n'amusanga mu kkubo, bombi ne baba bokka mu ttale. Ahiya yali ayambadde omunagiro omuggya. Awo Ahiya n'akwata omunagiro omuggya gwe yali asuulidde, n'aguyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. N'agamba Yerobowaamu nti: “Weetwalireko ebitundu kkumi, kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, akugamba nti: ‘Ndiggya obwakabaka ku Solomooni, ne nkuwa ggwe ebika kkumi. Solomooni alisigaza Ekika kimu ku lw'omuweereza wange Dawudi, ne ku lwa Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza mu nsi omuli Ebika bya Yisirayeli byonna. Ekyo kiriba bwe kityo, kubanga banvaako ne basinza Asitoreeti lubaale omukazi ow'Abasidoni, ne Kemosi, lubaale wa Mowaabu, ne Milukomu, lubaale w'Abammoni, ne batannywererako kukola bye nsiima, n'okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange nga Dawudi kitaawe wa Solomooni bwe yakolanga. Kyokka siriggya ku Solomooni bwakabaka bwe bwonna, era ndimuleka n'afuga okutuusa lw'alikisa omukono, ku lwa Dawudi omuweereza wange gwe neeroboza, era eyakwata ebiragiro byange n'amateeka gange. Wabula ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Solomooni, ne nkuwa ggwe Ebika kkumi. Mutabani we ndimulekera Ekika kimu, ndyoke mbenga bulijjo n'ow'ezzadde lya Dawudi omuweereza wange, afuga mu Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza okuba ekifo mwe banansinzizanga. Ggwe ndikutwala n'oba kabaka wa Yisirayeli, n'ofuga nga bw'oyagala. Bw'onossangayo omwoyo ku byonna bye nkulagira, n'onnywererako, n'okola bye nsiima, n'okwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga Dawudi omuweereza wange bwe yakolanga, nnaabeeranga wamu naawe. Ndikuwa okufuga Yisirayeli, ne nnyweza ab'ennyumba yo ku bufuzi, nga bwe nakola ku Dawudi. Era ndibonereza ab'ezzadde lya Dawudi olw'ebibi bya Solomooni, naye siribabonereza nnaku zonna.’ ” Solomooni bwe yamanya ebyo, n'asala amagezi okutta Yerobowaamu, kyokka Yerobowaamu n'addukira e Misiri ewa Sisaki kabaka waayo, n'abeera eyo okutuusa nga Solomooni amaze okufa. Ebirala byonna ebyogerwa ku Solomooni, ne byonna bye yakola, era n'amagezi ge, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebikolwa bya Solomooni. Ebbanga Solomooni lye yafugira Yisirayeli yonna mu Yerusaalemu lyali emyaka amakumi ana. Awo Solomooni n'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, kitaawe. Mutabani we Rehobowaamu n'amusikira ku bwakabaka. Awo Rehobowaamu n'agenda e Sekemu Abayisirayeli bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. Yerobowaamu mutabani wa Nebaati n'akiwulira ng'akyali mu Misiri gye yali addukidde okuwona Kabaka Solomooni, era nga gy'abeera. Ne bamutumya ajje. Bwe yajja, ye n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne bagenda ne bagamba Rehobowaamu nti: “Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito. Ggwe bw'onootuwewulira ku buzito obwo, n'otukendeereza ku kikoligo ekyo, tunaakuweerezanga.” Rehobowaamu n'abagamba nti: “Mugende, mulikomawo nga wayiseewo ennaku ssatu.” Abantu ne bagenda. Kabaka Rehobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Solomooni kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya?” Ne bamuddamu nti: “Bw'onokkiriza okuba omuweereza w'abantu bano olwaleero, n'okkiriza okubagondera, n'obaddamu ng'okozesa ebigambo ebirungi, olwo banaabanga baweereza bo ennaku zonna.” Kyokka Kabaka Rehobowaamu n'aleka amagezi g'abantu abakulu ge baamuwa, ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye era abaali bamuweereza. N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa mmwe? Tuddemu tutya abantu bano abaŋŋambye nti: ‘Wewula ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ” Awo abavubuka abaakula naye ne bamugamba nti: “Abantu abo abakugambye nti: ‘Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe tukusaba okituwewuleko,’ bagambe nti: ‘Akagalo kange aka nasswi kanene okusinga ekiwato kya kitange. Kale nno oba nga kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.’ ” Ku lunaku olwokusatu Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Kabaka Rehobowaamu nga ye bwe yali abalagidde ng'agamba nti: “Muddanga gye ndi ku lunaku olwokusatu.” Awo kabaka n'addamu abantu n'ebboggo, ng'avudde ku kiri abantu abakulu kye baamuwabulamu. N'akolera ku magezi abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti: “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.” Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu kye baagala. Mukama, Katonda, ekyo kye yayagala, alyoke atuukirize kye yagamba Yerobowaamu ng'ayita mu Ahiya Omusiilo. Abayisirayeli bonna bwe baalaba nga kabaka tabawulirizza, ne bamuddamu nti: “Kiki kye tugabana ku Dawudi? Tetulina kye tusikira ku mutabani wa Yesse. Kale Abayisirayeli, tugende, buli muntu yeddireyo ewaabwe, n'ab'ennyumba ya Dawudi beerabirire.” Rehobowaamu n'afuga Abayisirayeli abo bokka ab'omu kitundu ky'e Buyudaaya. Awo Kabaka Rehobowaamu n'atuma mu Bayisirayeli Hadoraamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze. Abayisirayeli ne bamukuba amayinja, ne bamutta. Kyokka ye kabaka n'ayanguwa okwesogga ekigaali kye, n'addukira e Yerusaalemu. Okuva olwo Abayisirayeli ab'omu bitundu eby'omu bukiikakkono, ne bajeemera ab'ennyumba ya Dawudi n'okutuusa kati. Awo ab'omu Yisirayeli yonna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumya okujja eri ekibiina ky'abantu, ne bamufuula kabaka wa Yisirayeli yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyanywerera ku b'ennyumba ya Dawudi. Awo Rehobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemu, n'akuŋŋaanya mu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana, okulwanyisa Abayisirayeli okubakomyawo mu bwakabaka bwe. Kyokka Katonda n'agamba musajja we Semaaya nti: “Gamba Rehobowaamu mutabani wa Solomooni era kabaka wa Buyudaaya, n'ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini n'abantu bonna abalala nti: ‘Mukama agamba nti temulumba baganda bammwe, Bayisirayeli bannammwe, kubalwanyisa. Muddeeyo buli omu mu maka ge, kubanga ebyo ebyabaawo, Nze nayagala bibe bwe bityo.’ ” Awo ne bagondera ekiragiro kya Mukama, ne baddayo, nga Mukama bwe yabalagira. Awo Yerobowaamu n'azimba buggya Ekibuga Sekemu mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi n'abeera omwo. N'ava eyo n'azimba buggya Ekibuga Penweli. Yerobowaamu n'alowooza mu mutima nti: “Kaakano obwakabaka bwandiddamu okufugibwa ab'ennyumba ya Dawudi. Abantu bano bwe banaayambukanga e Yerusaalemu okuwaayo ebitambiro eri Mukama mu Ssinzizo, omutima gwabwe gwandikyukira mukama waabwe Rehobowaamu kabaka wa Buyudaaya, nze banzite, badde gy'ali.” Awo kabaka bwe yamala okukirowoolereza, n'akola ennyana bbiri eza zaabu, n'agamba abantu nti: “Mukaluubirirwa nnyo okwambukanga e Yerusaalemu. Abange Abayisirayeli, bano be balubaale bammwe abaabaggya mu nsi y'e Misiri.” Ennyana emu n'agiteeka mu Beteli, endala n'agiteeka mu Daani. Ekintu ekyo ne kireetera abantu okukola ekibi, kubanga baagendanga okusinziza ne mu maaso g'eyo eyali e Daani. N'azimba amasabo mu bifo ebigulumivu eby'oku busozi, n'ateekawo bakabona ng'abaggya mu bantu bonna abatali ba mu Kika kya Leevi. Yerobowaamu era n'ateekawo embaga, ebeerengawo mu mwezi ogw'omunaana, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, nga gye baabanga nayo mu Buyudaaya. N'ayambuka ku alutaari e Beteli n'awaayo ebitambiro eri ennyana ze yakola. Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, omwezi ye yennyini gwe yalonda ku lulwe, n'ayambuka ku alutaari gye yazimba e Beteli. N'ateerawo Abayisirayeli embaga, n'ayambuka ku alutaari, n'anyookeza obubaane. Awo omusajja wa Katonda n'ava mu Buyudaaya nga Mukama ye amulagidde, n'ajja e Beteli. N'asanga Yerobowaamu ng'ayimiridde awali alutaari, okunyookeza obubaane. Omusajja oyo, ng'akolera ku ekyo Mukama kye yamulagira, n'akolimira alutaari eyo ng'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Alutaari ggwe, alutaari ggwe, Mukama agamba nti: ‘Laba eno: omwana alizaalirwa ennyumba ya Dawudi, erinnya lye Yosiya, ku ggwe kw'alittira bakabona b'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi, abakunyookerezaako obubaane. Era amagumba g'abafu galyokerwa ku ggwe.’ ” Era omusajja wa Katonda n'awa akabonero ku lunaku olwo ng'agamba nti: “Kano ke kabonero Mukama k'ayogedde: alutaari eno ejja kwatika, evvu erigiriko liyiike.” Awo olwatuuka, Kabaka Yerobowaamu bwe yawulira ekyo omusajja wa Katonda ky'ayogedde mu ddoboozi ery'omwanguka okuvumirira alutaari mu Beteli, n'agolola omukono ng'asinziira ku alutaari, n'alagira nti: “Mumukwate!” Amangwago omukono gw'amugololedde ne gukakanyala, n'atayinza na kuguzza. Alutaari nayo n'eyatika, evvu eryagiriko ne liyiika okutuukiriza akabonero omusajja wa Katonda ke yabawa nga Mukama bwe yamulagira. Awo Kabaka Yerobowaamu n'agamba omusajja wa Katonda nti: “Weegayirire Mukama, Katonda wo, onsabire, omukono gwange guwone.” Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne guwona, ne guddawo mu mbeera yaagwo eya bulijjo. Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti: “Tugende ffenna eka, owummuleko, era nkuwe ekirabo.” Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti: “Ne bw'onompa ekimu ekyokubiri eky'obugagga bw'omu lubiri lwo, sijja kuyingira wamu naawe, era sijja kulya mmere wadde okunywa amazzi mu kifo kino. Mukama bw'atyo bw'andagidde nti: ‘Tolyayo mmere wadde okunywayo amazzi, era toddira mu kkubo lye wakutte ng'ogendayo.’ ” Awo n'ayita mu kkubo ddala, n'ataddira mu kkubo lye yayitamu ng'ajja e Beteli. Mu kiseera ekyo, waaliwo omulanzi omukadde eyali abeera mu Beteli. Omu ku batabani be n'ajja n'amubuulira byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze mu Beteli ku lunaku olwo. Ebigambo bye yagamba kabaka nabyo abaana ne babibuulira kitaabwe. Kitaabwe n'ababuuza nti: “Kkubo ki ly'akutte ng'addayo?” Batabani be baali balabye ekkubo omusajja wa Katonda eyava e Buyudaaya lye yakwata. N'agamba batabani be nti: “Munteekere amatandiiko ku ndogoyi.” Ne bagamuteerako, n'agyebagala, n'awondera omusajja wa Katonda, n'amusanga ng'atudde wansi w'omuvule. N'amubuuza nti: “Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya?” Oli n'amuddamu nti: “Ye nze.” N'amugamba nti: “Jjangu tugende ffembi eka, olye ku mmere.” Omusajja wa Katonda n'agamba nti: “Siyinza kuddayo wamu naawe, wadde okuyingira naawe mu nnyumba, era sijja kulya mmere, wadde okunywa amazzi wamu naawe mu kifo kino, kubanga Mukama yannumiriza ng'agamba nti: ‘Tolyayo mmere wadde okunywayo amazzi, era bw'oba ovaayo, toyita mu kkubo lye wayitamu ng'ogendayo.’ ” Awo omulanzi omukadde ow'e Beteli n'amugamba nti: “Nange ndi mulanzi nga ggwe. Mukama yalagidde malayika n'aŋŋamba nti: ‘Mukomyeewo, ajje mu nnyumba yo, alye ku mmere era anywe ku mazzi.’ ” Sso ng'amulimba. Awo omusajja wa Katonda n'addayo n'omulanzi w'e Beteli, n'alya emmere mu nnyumba ye, era n'anywa amazzi. Awo bwe baali batudde ku lujjuliro, ekigambo kya Mukama ne kijjira omulanzi eyamukomyawo. Mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba omusajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bw'ojeemedde kye nakugamba Nze Mukama, Katonda wo, n'otokola kye nakulagira, naye n'okomawo, n'olya emmere era n'onywa amazzi mu kifo kye nakugambako nti tolyayo mmere era tonywayo mazzi, omulambo gwo teguliziikibwa ku biggya bya bajjajjaabo.’ ” Omulanzi omukadde bwe yamala okulya emmere n'okunywa, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi, ng'agitegekera omulanzi gwe yakomyawo. Omulanzi oyo n'atandika olugendo lwe. Empologoma n'emusanga mu kkubo, n'emutta. Omulambo gwe ne gugaŋŋalama ku kkubo. Endogoyi n'empologoma ne ziyimirira kumpi nagwo. Abantu abaali bayitawo ne balaba omulambo nga gugaŋŋalamye ku kkubo, n'empologoma ng'eyimiridde kumpi nagwo. Ne bagenda ne bakibuulira abantu ab'omu kibuga, omulanzi omukadde mw'abeera. Omulanzi eyali asanze mu kkubo omusajja wa Katonda n'amukomyawo, bwe yakiwulira, n'agamba nti: “Ye musajja wa Katonda eyajeemedde Mukama kye yamulagira, Mukama n'amuwaayo, empologoma n'emutaagula n'emutta, ne kiba nga Mukama bwe yamugamba.” Awo n'agamba batabani be nti: “Munteekere amatandiiko ku ndogoyi.” Ne bagateekako. N'agenda, n'asanga omulambo gw'omusajja wa Katonda nga gugaŋŋalamye ku kkubo, era endogoyi n'empologoma nga biyimiridde kumpi nagwo, empologoma nga tegulidde era nga tetaagudde ndogoyi. Omulanzi n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda, n'aguteeka ku ndogoyi, n'akomawo nagwo mu kibuga, okukungubaga n'okuguziika. N'ateeka omulambo gw'omusajja wa Katonda mu ntaana eyiye kennyini, ne bamukungubagira nti: “Woowe, sseruganda!” Bwe yamala okumuziika, n'agamba batabani be nti: “Bwe ndimala okufa, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda oyo mw'aziikiddwa. Amagumba gange mugaganzikanga kumpi n'amagumba ge. Mukama bye yamulagira okwogera n'avumirira alutaari eri mu Beteli, n'amasabo gonna ag'omu bifo ebigulumivu eby'oku busozi ebiri mu bibuga by'e Samariya, tebirirema kutuukirira.” Ebyo bwe byamala okubaawo, Yerobowaamu teyakyuka kulekayo mpisa ze embi, wabula ne yeeyongera bweyongezi okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi ng'abaggya mu bantu abaabulijjo. N'ayawulanga buli muntu eyayagalanga okwawulibwa, n'aba omu ku bakabona ab'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi. Ekibi kya Yerobowaamu ekyo ne kireetera ab'ennyumba ye okuzikirira n'okuggweerawo ddala. Mu biro ebyo, Abiya mutabani wa Yerobowaamu n'alwala. Yerobowaamu n'agamba mukyala we nti: “Situka, weebuzeebuze oleme kumanyika nti ggwe muka Yerobowaamu, ogende e Siilo. Eyo ye wali Ahiya, omulanzi eyaŋŋamba nti ndiba kabaka w'abantu bano. Otwale emigaati kkumi, ne capati, n'eccupa y'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali. Anaakubuulira omwana bw'anaabeera.” Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'asituka n'agenda e Siilo, n'ayingira mu nnyumba ya Ahiya. Ahiya yali takyayinza kulaba. Amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde. Mukama n'agamba Ahiya nti: “Muka Yerobowaamu wuuyo ajja okukwebuuzaako mutabani we bw'anaabeera, kubanga mulwadde. Ojja kumugamba bw'oti ne bw'oti, kubanga bw'anaatuuka, ajja kwefuula omukazi omulala.” Awo Ahiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bya muka Yerobowaamu ng'atuuse ku mulyango ayingire, n'agamba nti: “Yingira ggwe muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula omuntu omulala? Bye ntumiddwa okukugamba si birungi. Genda otegeeze Yerobowaamu nti Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nakugulumiza, ne nkuggya mu bantu abaabulijjo, ne nkufuula omufuzi w'abantu bange Abayisirayeli. Naggya obwakabaka ku b'ennyumba ya Dawudi, ne mbuwa ggwe. Naye tobadde ng'omuweereza wange Dawudi, eyakwata ebiragiro byange, n'annywererako n'omutima gwe gwonna, n'akolanga ebyo byokka bye nsiima. Ggwe okoze ebibi okusinga bonna abaakusooka okufuga. Onkubye amabega n'ogenda weekolera balubaale, n'ebifaananyi mu bintu ebisaanuuse, n'osinza ebyo, n'onsunguwaza. N'olwekyo nja kutuusa akabi ku b'ennyumba yo ggwe Yerobowaamu, mmalirewo ddala mu Yisirayeli buli wa lulyo lwo ow'obulenzi, omuto n'omukulu, era ndyererawo ddala ab'ennyumba yo, ggwe Yerobowaamu, ng'omuntu bw'ayerawo obusa okutuusa lwe buggwaawo bwonna. Owuwo ggwe Yerobowaamu anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'anaafiira ku ttale ebinyonyi binaamulya. Mukama ye ayogedde.’ “Kale situka oddeyo eka. Ggwe olunaatuuka bw'oti mu kibuga, omwana ajja kufa. Abantu bonna mu Yisirayeli bajja kumukungubagira, bamuziike. Ku ba Yerobowaamu, oyo yekka ye ajja okuziikibwa kubanga mu nnyumba ya Yerobowaamu, oyo ye asangiddwamu akalungi akasiimibwa Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Mukama agenda kweteerawo kabaka okufuga Yisirayeli. Kabaka oyo alimalawo ab'ennyumba ya Yerobowaamu ku lunaku olwo. Naye omanyi? Ne kaakano Mukama ajja kubonereza Yisirayeli ng'engezi bw'enyeenya ekitoogo mu mazzi, era aliggya Abayisirayeli mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, abasaasaanyize emitala w'Omugga Ewufuraate, kubanga bamusunguwazizza nga beekolera ebifaananyi bya Asera, lubaale omukazi. Mukama ajja kwabulira Yisirayeli olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, ne bye yakozesa Abayisirayeli.” Awo muka Yerobowaamu n'asituka n'agenda, n'atuuka e Tiruza. Bwe yali ayingira bw'ati mu mulyango gw'ennyumba, omwana n'afa. Ne bamuziika. Yisirayeli yonna n'emukungubagira nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu muweereza we Ahiya omulanzi. N'ebirala byonna Yerobowaamu bye yakola, entalo ze yalwana, n'engeri gye yafugamu, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Ekiseera Yerobowaamu kye yafugira, kyali emyaka amakumi abiri mu ebiri, n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, Nadabu mutabani we n'amusikira. Rehobowaamu mutabani wa Solomooni yafuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi ana mu gumu, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemu, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bibuga byonna eby'Ebika bya Yisirayeli okumusinzizangamu. Nnyina Rehobowaamu yali Naama, nga Mwammoni. Ab'omu Buyudaaya ne bakola ebibi ebisinga ebya bajjajjaabwe bonna bye baakola, ne banyiiza Mukama, ne bamusunguwaza. Nabo beezimbira ku buli lusozi oluwanvu, ne wansi wa buli muti ogw'ekisiikirize, ebifo ebigulumivu eby'okusinzizangamu balubaale, n'empagi ez'amayinja era n'ebifaananyi bya Asera, lubaale omukazi. Era mu nsi eyo mwalimu abasajja abaakolanga ebibi by'obwamalaaya ku basajja bannaabwe. Ne bakolanga byonna ebyenyinyalwa eby'ab'amawanga amalala Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli bajja okugibeeramu. Awo mu mwaka ogwokutaano ogw'obwakabaka bwa Rehobowaamu, Sisaki kabaka w'e Misiri n'ajja n'alumba Yerusaalemu. N'anyaga ebyobugagga eby'omu Ssinzizo n'eby'omu lubiri lwa kabaka, byonna n'abitwala. N'atwala n'engabo zonna eza zaabu, Solomooni ze yali aweesezza. Kabaka Rehobowaamu n'aweesa engabo ez'ekikomo okudda mu kifo ky'ezo, n'azikwasa abakulu b'abaggazi, abaakuumanga wankaaki w'olubiri lwe. Kabaka buli lwe yayingiranga mu Ssinzizo, abakuumi nga bazikwata ne bazisitula, n'oluvannyuma ne bazizzaayo mu nnyumba yaabwe. N'ebirala byonna Rehobowaamu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo eky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Ekiseera kyonna, waabangawo entalo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu. Rehobowaamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe, mu Kibuga kya Dawudi. Nnyina Rehobowaamu yali Naama, nga Mwammoni. Mutabani we Abiyaamu n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, Abiyaamu n'afuuka kabaka wa Buyudaaya. N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Maaka, muwala wa Abusaalomu. Abiyaamu oyo n'akola ebibi nga kitaawe bye yakola, n'atanywerera ku Mukama, Katonda we, nga jjajjaawe Dawudi bwe yamunywererako. Wabula ku lwa Dawudi, Mukama, Katonda we n'amuwa omwana ow'obulenzi okumusikira ku bwakabaka mu Yerusaalemu, n'okukuuma Yerusaalemu nga kiri mirembe, kubanga Dawudi yakolanga ebyo Mukama by'asiima, era teyavanga ku ky'amulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe, okuggyako mu kigambo ky'ensobi gye yakola ku Wuriya Omuhiiti. Mu mulembe gwa Abiyaamu gwonna, waabangawo entalo ezaatandikawo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu. N'ebirala byonna Abiyaamu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo eky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Era waabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu. Abiyaamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi. Mutabani we Asa n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'amakumi abiri nga Yerobowaamu ye Kabaka wa Yisirayeli, Asa n'afuuka kabaka wa Buyudaaya. N'afugira emyaka amakumi ana mu gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Maaka muwala wa Abusaalomu. Asa n'akola Mukama by'asiima, nga Dawudi jjajjaawe bwe yakola. N'aggyawo mu nsi eyo omuze gw'abasajja okukola obwamalaaya ne basajja bannaabwe. N'aggyawo ebifaananyi byonna ebyasinzibwanga, bajjajjaabe bye baakola. N'agoba ne Maaka nnyina, ku bwannamasole, kubanga Maaka oyo yakola ekifaananyi ekizira eky'okusinzizaako Asera. Asa n'atemaatema ekifaananyi ekyo, n'akyokera ku kagga Kidurooni. Asa newaakubadde nga teyamalirawo ddala bifo bigulumivu eby'oku busozi bye basinzizaamu balubaale, kyokka mu bulamu bwe bwonna yali mwesigwa eri Mukama. Yateeka mu Ssinzizo ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza kitaawe bye yawongera Mukama, era n'ebyo ye yennyini bye yawonga. Asa Kabaka wa Buyudaaya ne Baasa kabaka wa Yisirayeli baalwanagananga mu ntalo mu kiseera kyonna eky'obufuzi bwabwe. Kabaka Baasa owa Yisirayeli n'alumba Buyudaaya. N'azimba ekigo ekigumu ku kibuga Raama, waleme kubaawo asobola kuva mu Buyudaaya, wadde okugendayo, okutuuka ku Asa, Kabaka waayo. Awo Asa n'aggyayo ffeeza yenna ne zaabu eyali asigadde mu ggwanika ly'Essinzizo n'ery'olubiri lwe, n'amukwasa abaweereza be bamutwalire Benihadadi, kabaka wa Siriya, era eyabeeranga e Damasiko. Benihadadi oyo, ye mutabani wa Taburimmooni era muzzukulu wa Heziyooni. Ng'amutumira nti: “Tukole endagaano ey'okukolaganira awamu, nga bakitaffe gye baakola. Laba nkuweerezza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano yo ey'enkolagana ne Baasa, Kabaka wa Yisirayeli alyoke aggye amagye ge mu nsi yange.” Awo Benihadadi n'akkiriza ebya Kabaka Asa n'atuma abaduumizi b'eggye lye okulumba ebibuga bya Yisirayeli, n'awamba ebibuga Yiyoni, ne Daani, ne Abeli Beeti Maaka, ne Kinerooti, n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali. Awo Baasa bwe yawulira ebiguddewo, n'alekera awo okuzimba ekigo ekigumu ku Kibuga Raama, n'agenda n'abeeranga e Tiruza. Awo Kabaka Asa n'akunga Abayudaaya bonna awatali kutaliza n'omu, ne bagenda ne baggya e Raama amayinja n'emiti Baasa bye yazimbisa. Asa n'abizimbisa ebibuga Mizupa ne Gepa eky'omu kitundu kya Benyamiini. N'ebirala byonna Asa bye yakola omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, n'ebibuga bye yazimbako ebigo ebigumu, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Naye mu kiseera eky'obukadde bwe n'alwala ebigere. Awo Asa n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe. Mutabani we Yehosafaati n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogwokubiri nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri. N'akola ebinyiiza Mukama nga kitaawe bye yakola, era n'agoberera kitaawe mu kukola ekibi ekyaleetera Yisirayeli okwonoona. Awo Baasa mutabani wa Ahiya ow'omu Kika kya Yissakaari ne yeekobera Nadabu n'amuttira e Gibbetooni eky'Abafilistiya, Nadabu n'Abayisirayeli bonna kye baali bazingizizza. Yamuttira mu mwaka ogwokusatu nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Baasa n'asikira Nadabu ku bwakabaka bwa Yisirayeli. Awo Baasa olwamala okufuuka kabaka, n'atta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna, n'abazikiririza ddala obutalekaawo n'omu nga mulamu, nga Mukama bwe yayogera ng'ayita mu muweereza we Ahiya, Omusiilo, olw'ebibi Yerobowaamu bye yakola ne bireetera Yisirayeli okwonoona, era ne bisunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli. N'ebirala byonna Nadabu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Asa kabaka wa Buyudaaya, ne Baasa kabaka wa Yisirayeli baalwanagananga mu ntalo mu kiseera kyonna eky'obufuzi bwabwe. Mu mwaka ogwokusatu nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Baasa mutabani wa Ahiya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli yonna, n'afugira e Tiruza emyaka amakumi abiri mu ena. N'akola ebinyiiza Mukama, nga Yerobowaamu bye yakola, era n'agoberera Yerobowaamu mu kukola ekibi ekyaleetera Yisirayeli okwonoona. Awo Mukama n'atuma Yeehu mutabani wa Hanani okuvumirira Baasa ng'agamba nti: “Wali toliiko bw'oli ne nkufuula mukulembeze wa bantu bange Abayisirayeli. Naye naawe ogoberedde empisa embi eza Yerobowaamu, n'oleetera abantu bange Abayisirayeli okwonoona, ne mbasunguwalira olw'ebibi byabwe. Kale ndimalirawo ddala ab'ennyumba yo bonna nga bwe namalirawo ddala ab'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati. Owuwo, ggwe Baasa, anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'oyo anaafiira ku ttale, ebinyonyi binaamulya.” N'ebirala byonna Baasa bye yakola omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Baasa n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa e Tiruza. Mutabani we Ela n'amusikira ku bwakabaka. Ddala Mukama yayogera ng'ayita mu mulanzi Yeehu mutabani wa Hanani, n'avumirira Baasa n'ab'ennyumba ye, olw'ebibi byonna Baasa bye yakola n'anyiiza Mukama. Yasunguwaza Mukama, si lwa bibi bye byokka bye yakola, nga Yerobowaamu, wabula n'olw'okutta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna. Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omukaaga nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Ela mutabani wa Baasa n'afuuka Kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri mu Tiruza. Awo Zimuri, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekimu ekyokubiri eky'amagaali ge, n'amwekobera. Lumu, Ela bwe yali ng'anywa omwenge, n'atamiirira mu maka ga Aruza eyali omukuumi w'olubiri lw'e Tiruza, Zimuri n'ayingira, n'amufumita n'amutta, n'amusikira ku bwakabaka, mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya. Zimuri olwamala okufuuka kabaka, nga kyajje atuule ku ntebe ye, n'atta ab'ennyumba ya Baasa bonna, obutamulekerawo mwana wa bulenzi, k'abe owuwe, oba ow'ab'ezzadde lye, wadde owa mikwano gye. Bw'atyo Zimuri n'azikiriza ab'ennyumba ya Baasa bonna nga Mukama bwe yayogera okuvumirira Baasa, ng'ayita mu Yeehu omulanzi, kubanga ebibi byonna Baasa ne mutabani we Ela bye baakola, okusinza ebitali Katonda, era ne bye baakola ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, byasunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli. N'ebirala byonna Ela bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya, Zimuri n'afuuka kabaka, n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Abayisirayeli baali basiisidde okulwanyisa ekibuga Gibbetooni eky'Abafilistiya. Abantu abaali basiisidde bwe baawulira nga Zimuri yeekobedde kabaka n'amutta, ku lunaku olwo lwennyini Abayisirayeli bonna abaali mu lusiisira, Omuri omukulu w'eggye ne bamufuula kabaka wa Yisirayeli. Omuri n'Abayisirayeli bonna ne bava e Gibbetooni ne bagenda ne bazingiza ekibuga Tiruza. Zimuri bwe yalaba ng'ekibuga kiwambiddwa, n'ayingira mu kifo ekigumu eky'omu lubiri munda, olubiri n'alukumako omuliro ne yeeyokeramu, n'akisa omukono olw'ebibi bye bye yakola n'anyiiza Mukama. Yakola nga Yerobowaamu, n'anyiiza Mukama olw'ebibi bye ye yennyini bye yakola, n'olw'okuleetera Yisirayeli okwonoona. N'ebirala byonna Zimuri bye yakola, omuli n'olukwe lwe yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Awo Abayisirayeli ne beesalamu ebitundu bibiri: abamu nga baagala Tibuni mutabani wa Ginati gwe baba bafuula kabaka, abalala nga baagala Omuri. Abaagala Omuri ne baba ba maanyi okusinga abaagala Tibuni mutabani wa Ginati. Tibuni n'afa, Omuri n'afuuka kabaka. Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ogumu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya, Omuri n'afuuka Kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri. Yafugira emyaka mukaaga mu Tiruza. N'agula ku Semeri olusozi Samariya ebitundu kakaaga ebya ffeeza, n'aluzimbako ekibuga. Ekibuga ekyo kye yazimbako n'akituuma Samariya, ng'akibbulamu erinnya lya Semeri eyali nnannyini lusozi olwo. Omuri n'akola ebibi n'anyiiza Mukama, n'ayonoona okusinga bonna abaamusooka. Yakolera ddala nga Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, n'asunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, olw'ebibi ebibye bye yakola, era n'olw'okuleetera Abayisirayeli okwonoona nga basinza ebitali Katonda. N'ebirala byonna Omuri bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Omuri n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samariya, mutabani we Ahabu n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Ahabu mutabani wa Omuri n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira Yisirayeli mu Samariya emyaka amakumi abiri mu ebiri. Ahabu oyo, mutabani wa Omuri, n'akola ebibi n'anyiiza Mukama okusinga bonna abaamusooka. Eky'okukola ebibi nga Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ne kitamumala, wabula n'assaako n'okuwasa Yezebeeli, muwala wa Etubaali, kabaka w'Abasidoni, n'atuuka n'okuba omuweereza wa Baali era n'amusinza. N'azimbira Baali essabo mu Samariya, n'amuzimbiramu alutaari. Ahabu era n'akola ebifaananyi bya lubaale omukazi Asera, ne yeeyongera okukola ebisunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, okusinga bakabaka bonna aba Yisirayeli abaamusooka. Mu mulembe gwe, Hiyeeli ow'e Beteli n'azimba buggya ekibuga Yeriko. Bwe yali ateekawo omusingi, n'afiirwa Abiraamu mutabani we omuggulanda, ate bwe yali awangamu enzigi zaakyo, n'afiirwa Segubu mutabani we omuggalanda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Yoswa mutabani wa Nuuni. Mu kiseera ekyo Eliya ow'e Tisube, omu ku batuuze b'e Gileyaadi, n'agamba Kabaka Ahabu nti: “Mu mazima ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, era Katonda omulamu gwe nsinza: tewaabenga musulo wadde enkuba mu myaka gino, wabula nga ŋŋambye nti bibeewo.” Awo Mukama n'agamba Eliya nti: “Va wano ogende ebuvanjuba, weekweke okumpi n'akagga Keriti, ebuvanjuba bwa Yorudaani. Mu kagga mw'onoggyanga amazzi ag'okunywa, era ndagidde binnamuŋŋoona okukuleeteranga eyo ebyokulya.” Eliya n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'agenda n'abeera okumpi n'akagga Keriti, ebuvanjuba bwa Yorudaani. Binnamuŋŋoona ne bimuleeteranga emmere n'ennyama, era n'anywanga amazzi mu kagga. Bwe waayitawo ekiseera, akagga ne kakalira, olw'enkuba obutatonnya mu nsi eyo. Awo Mukama n'agamba Eliya nti: “Situka ogende e Zarefaati eky'omu Sidoni, obeere eyo. Ndagidde omukazi nnamwandu okukuwa by'onoolyanga.” Awo Eliya n'asituka, n'agenda e Zarefaati. Bwe yatuuka ku mulyango omunene ogw'ekibuga, n'asangawo omukazi nnamwandu ng'alonderera obuku. Eliya n'amuyita, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi mu bbakuli nnyweko.” Omukazi bwe yali ng'agenda okugaleeta, Eliya n'amuyita n'amugamba nti: “Nkwegayiridde ndeeteraayo n'akatundu k'omugaati.” Omukazi n'agamba nti: “Mu mazima ga Mukama, Katonda wo omulamu, sirinaayo mugaati wabula olubatu lw'obuwunga bw'eŋŋaano mu kabbo, n'otuzigo mu kasumbi. Era nzuuno nnondererayo ku buku, ŋŋende eka, nneefumbire akamere, nze n'omwana wange tukalye, n'oluvannyuma tufe enjala.” Awo Eliya n'amugamba nti: “Totya. Genda okole nga bw'ogambye. Naye sooka onfumbireko akagaati okandeetere, n'oluvannyuma weefumbire ggwe n'omwana wo, kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Obuwunga bw'eŋŋaano mu kabbo ako tebujja kuggwaamu, n'ensumbi y'omuzigo tejja kukalira, nga Ye Mukama tannatonnyesa nkuba ku nsi.’ ” Awo omukazi n'agenda n'akola nga Eliya bw'amugambye, ye ne Eliya n'ab'awaka ne baba n'emmere okumala ekiseera kiwanvu. Akabbo tekaggwaamu buwunga bwa ŋŋaano, n'akasumbi k'omuzigo tekaakalira. Ne biba nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Eliya. Ebyo bwe byaggwa, omwana w'omukazi oyo nnannyini nnyumba, n'alwala. Obulwadde ne bunyiikirira ddala okumuluma, n'aggwaamu n'akassa. Awo omukazi n'agamba Eliya nti: “Nakukola kabi ki ggwe omusajja wa Katonda? Wajja wano kunnumiriza bibi byange, na kutta mwana wange?” Eliya n'amugamba nti: “Mpa eno omwana wo.” N'amuggya mu mikono gy'omukazi, n'amusitula n'amwambusa mu kisenge eky'omu kalinaabiri ye yennyini kye yasulangamu, n'amugalamiza ku kitanda kye. Ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wange, otuusizza akabi ne ku nnamwandu ono ansuza, n'otta omwana we?” Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu. N'akoowoola Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wange, nkwegayiridde omwana ono addemu obulamu.” Mukama n'akkiriza Eliya kye yasaba, omwana n'adda engulu, n'alamuka. Awo Eliya n'akwata omwana n'amuggya mu kisenge ekya waggulu mu kalinaabiri, n'amuserengesa, n'amuwa nnyina, n'amugamba nti: “Omwana wo wuuno mulamu.” Awo omukazi n'agamba Eliya nti: “Kaakano ntegeeredde ddala ng'oli musajja wa Katonda, era nga kyamazima Mukama ayogera ng'ayita mu ggwe.” Bwe waayitawo ennaku eziwera, Mukama n'agamba Eliya, mu mwaka ogwokusatu ogw'ekyeya nti: “Genda weeyanjule ewa Ahabu. Nze nja kutonnyesa enkuba ku nsi.” Awo Eliya n'agenda okweyanjula ewa Ahabu. Olwo enjala yali enyiikidde nnyo mu Samariya. Awo Ahabu n'ayita Obadiya eyali alabirira olubiri Obadiya oyo yali assaamu nnyo Mukama ekitiibwa. Yezebeeli bwe yali ng'atta abalanzi ba Mukama, Obadiya yatwala abalanzi kikumi, n'abakweka, ataano ataano mu mpuku, n'abafuniranga emmere n'amazzi. Ahabu n'agamba Obadiya nti: “Genda otuuke ku nzizi zonna ez'amazzi, ne ku bugga bwonna mu nsi eno, mpozzi twandizuulayo omuddo, ne tuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa, tuleme kubaako nsolo ze tufiirwa.” Awo ne bakkaanya bombi ekitundu ky'ensi buli omu ky'anaalambula. Ahabu n'akwata ekkubo erirye, ne Obadiya n'akwata erirye. Awo Obadiya bwe yali mu kkubo ng'atambula, Eliya n'amusisinkana. Obadiya n'amutegeera, n'avuunama n'agamba nti: “Ggwe wuuyo, mukama wange Eliya?” Eliya n'addamu nti: “Nze nzuuno. Genda otegeeze mukama wo kabaka nti ndi wano.” Obadiya n'agamba nti: “Nzizizza musango ki kw'osinziira okwagala okumpaayo, nze omuweereza wo, mu mikono gya Kabaka Ahabu okunzita? Mu mazima ga Mukama, Katonda wo, tewali ggwanga wadde obwakabaka, mukama wange gy'ataatuma okukunoonya. Era bwe baagambanga nti: ‘Tali wano,’ n'alayiza ab'obwakabaka obwo oba ab'eggwanga eryo bakakase nga tebaakulabye. Kale kaakano ogambye nti ŋŋende ntegeeze mukama wange nti oli wano. Naye nnaaba naakava w'oli, Mwoyo wa Mukama n'akutwala gye simanyi! Olwo bwe naatuuka ne ntegeeza Ahabu n'atayinza kukulaba, ajja kunzita, sso nga nze omuweereza wo, nzisaamu Mukama ekitiibwa okuviira ddala mu buto bwange. Mukama wange, tebaakubuulira kye nakola, Yezebeeli bwe yali atta abalanzi ba Mukama, nga bwe nakweka abasajja kikumi ku balanzi ba Mukama abo, amakumi ataano ataano mu mpuku, ne mbawanga emmere n'amazzi? Kale kaakano n'oŋŋamba nti: ‘Genda otegeeze mukama wo nti Eliya wuuno ali wano!’ Ajja kunzita.” Eliya nagamba nti: “Mu mazima ga Mukama Omulamu ow'Obuyinza gwe mpeereza, siireme kweyanjula wa kabaka olwaleero.” Awo Obadiya n'agenda okusisinkana Ahabu, n'amutegeeza. Ahabu n'agenda okusisinkana Eliya. Awo Ahabu bwe yalaba Eliya, n'amugamba nti: “Ggwe wuuyo ateganya Yisirayeli?” Eliya n'addamu nti: “Si nze nteganyizza Yisirayeli, wabula ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, ggwe n'osinza Babbaali. Kale kaakano, tumira Abayisirayeli bonna, bakuŋŋaanire we ndi ku Lusozi Karumeeli, n'abalaguzi ba Baali ebikumi ebina mu ataano, n'aba Asera ebikumi ebina, abaliira ku lujjuliro lwa Yezebeeli.” Awo Ahabu n'atumya Abayisirayeli bonna, n'akuŋŋaanyiza n'abalaguzi ku Lusozi Karumeeli. Awo Eliya n'ajja eri abantu abo bonna, n'agamba nti: “Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, gwe muba musinza. Kyokka oba Baali ye Katonda, kale gwe muba musinza.” Naye abantu ne batamuddamu kigambo. Awo Eliya n'agamba abantu nti: “Nze mulanzi wa Mukama nzekka asigaddewo, naye abalaguzi ba Baali bali ebikumi bina mu ataano. Kale batuwe ente bbiri, abalaguzi ba Baali beerondereko eneeba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebakoleezaako muliro. Nange nja kubaaga ente eyookubiri, ngiteeke ku nku, nga sikoleezezzaako muliro. Mmwe mukoowoole lubaale wammwe, nze nja kukoowoola Mukama. Kale oyo anaddamu n'aweereza omuliro, nga ye Katonda.” Abantu bonna ne baddamu nti: “Ky'ogambye kirungi.” Awo Eliya n'agamba abalaguzi ba Baali nti: “Mulondeko ente emu eneeba eyammwe. Mmwe muba musooka okubaaga, kubanga muli bangi. Mukoowoole lubaale wammwe, kyokka temukoleezaako muliro.” Abalaguzi ba Baali ne batwala ente gye baaweebwa, ne bagibaaga. Ne bakoowoola lubaale Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bagamba nti: “Ayi Baali, otwanukule.” Kyokka ne wataba ddoboozi, wadde addamu n'omu. Ne bazina nga babuukirabuukira awali alutaari eyakolebwa. Mu ttuntu, Eliya n'abakudaalira n'agamba nti: “Mukoowoole nnyo, anti lubaale. Yandiba ng'aliko ky'afumiitiriza, oba ng'agenze kweteewuluzaako, oba ng'aliko gy'alaze mu lugendo. Ayinza n'okuba nga yeebase, nga kyetaagisa kumuzuukusa.” Abalaguzi ba Baali ne bakoowoola nnyo, ne beesala n'obwambe era n'amafumu nga bwe baali bamanyidde okukola, okutuusa omusaayi okukulukuta. Ettuntu bwe lyamenyeka, ne baleekaana ng'abalalu okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitambiro eky'akawungeezi. Naye ne watabaawo kanyego, wadde abaanukula n'omu, oba abafaako. Awo Eliya n'agamba abantu bonna nti: “Musembere we ndi.” Abantu bonna ne basembera w'ali. N'azimba buggya alutaari ya Mukama eyali emenyeddwa. N'atwala amayinja kkumi n'abiri, ng'omuwendo bwe guli ogw'Ebika by'abasibuka mu Yakobo, Yakobo oyo Mukama gwe yagamba nti: “Erinnya lyo onooyitibwanga Yisirayeli.” Amayinja ago n'agazimbisa alutaari ey'okusinzizaako Mukama. N'asima olusalosalo okugyetoolooza, olugyamu ensuwa nga bbiri ez'amazzi. N'atindikira enku ku alutaari, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku ezo. N'agamba nti: “Mujjuze ensuwa nnya amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ne ku nku.” Ne bakikola. N'agamba nti: “Mukole bwe mutyo omulundi ogwokubiri.” Ne bakikola. Era n'agamba nti: “Mukole bwe mutyo n'omulundi ogwokusatu.” Amazzi ne gakulukuta okwetooloola alutaari, ne gajjuza n'olusalosalo. Ekiseera eky'okuwaayo ekitambiro eky'akawungeezi bwe kyatuuka, Eliya omulanzi n'asemberera alutaari, n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Aburahamu, owa Yisaaka ne Yasirayeli, olwaleero ka kimanyibwe nga Ggwe Katonda mu Yisirayeli, era nga nze ndi muweereza wo, era nga nkoze bino byonna nga Ggwe ondagidde. Nnyanukula, ayi Mukama, nnyanukula, abantu bano balyoke bamanye nga Ggwe, Mukama, Ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okugizza gy'oli.” Awo Katonda n'asindika omuliro ne gwokya ekitambiro, n'enku, n'amayinja, ne gukomba ettaka, ne gukaliza amazzi agaali mu lusalosalo. Abantu bonna bwe baalaba ekyo, ne bavuunama, ne bagamba nti: “Mukama ye Katonda! Mukama ye Katonda!” Awo Eliya n'abagamba nti: “Mukwate abalaguzi ba Baali, waleme kutolokako n'omu!” Ne babakwata. Eliya n'abaserengesa ku kagga Kisoni, n'abattira eyo. Awo Eliya n'agamba Ahabu nti: “Genda olye, onywe, mpulira okuwuuma kw'enkuba ennyingi.” Ahabu n'agenda okulya n'okunywa. Eliya n'ayambuka ku ntikko y'Olusozi Karumeeli, n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge. N'agamba omuweereza we nti: “Genda olengere ku ludda lw'ennyanja.” Omuweereza n'agenda, n'alengera, n'agamba nti: “Tewali kantu.” Eliya n'amugamba nti: “Ddayo emirundi musanvu.” Ku mulundi ogw'omusanvu, omuweereza n'agamba nti: “Akale akatono ng'ekibatu ky'omuntu, kaakano kambuka nga kava mu nnyanja.” Eliya n'agamba omuweereza we nti: “Genda ogambe Kabaka Ahabu nti: ‘Yingira mu ggaali lyo, oddeyo eka, enkuba ereme kukuziyiza.’ ” Mu kaseera katono, eggulu ne liddugala ebire, embuyaga n'etandika okukunta, enkuba n'eyiika nnyingi. Ahabu n'alinnya mu ggaali, n'agenda e Yezireeli. Mukama n'awa Eliya amaanyi agenjawulo, ne yeesiba ekimyu n'adduka ng'akulembeddemu Ahabu okutuuka awayingirirwa e Yezireeli. Awo Kabaka Ahabu n'abuulira mukazi we Yezebeeli byonna Eliya bye yakola, ne bwe yatta abalaguzi ba Baali bonna. Awo Yezebeeli n'atuma omubaka eri Eliya ng'amugamba nti: “Balubaale bambonereze n'obukambwe singa enkya, mu budde nga buno, nnaaba sinnakutta, nga ggwe bwe wasse abantu abo.” Awo Eliya n'atya, n'asituka n'adduka okuwonya obulamu bwe. N'agenda e Beruseba eky'omu Buyudaaya. N'aleka eyo omuweereza we. Kyokka ye n'atambula mu ddungu olugendo lwa lunaku lumu, n'ajja n'atuula wansi w'omwoloola, ne yeesabira okufa. N'agamba nti: “Kimala! Kaakano, ayi Mukama, twala obulamu bwange, kubanga sirina kye ngasizza kisinga kya bajjajjange!” N'agalamira, ne yeebaka wansi w'omwoloola. Awo malayika n'amukwatako, n'amugamba nti: “Golokoka olye.” Eliya n'atunula eno n'eri n'amagamaga, n'alaba emitwetwe we omugaati ogukaliriddwa ku manda, era n'akasumbi k'amazzi. N'alya era n'anywa, n'addamu okugalamira. Malayika wa Mukama n'ajja omulundi ogwokubiri, n'amukwatako, n'agamba nti: “Golokoka olye, sikulwa ng'olugendo lukulemerera, kubanga lukyali luwanvu.” Eliya n'agolokoka, n'alya era n'anywa, ebyokulya ne bimuwa amaanyi, n'atambula ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, n'atuuka ku Horebu, Olusozi lwa Katonda. Eliya bwe yatuuka ku Lusozi Horebu, n'ayingira mu mpuku, n'asula omwo. Awo Mukama n'ayogera naye, n'amubuuza nti: “Eliya okola ki wano?” Eliya n'addamu nti: “Nnumirwa nnyo ekitiibwa kyo, ayi Mukama, Katonda Nnannyinimagye, kubanga Abayisirayeli bamenye endagaano gye wakola nabo, bamenyeewo zaalutaari zo, era basse abalanzi bo, nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange baagala okunzita.” Mukama n'agamba nti: “Fuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso gange.” Olwo Mukama n'ayitawo, embuyaga ey'amaanyi n'emenya ensozi, era n'eyasa enjazi ng'emukulembeddemu, kyokka Mukama nga tali mu mbuyaga. Embuyaga bwe yamala okuyita ne wabaawo okukankana kw'ensi, kyokka Mukama nga tali mu kukankana kwa nsi. Okukankana kw'ensi bwe kwakoma, ne wabaawo omuliro, kyokka era Mukama nga tali mu muliro. Omuliro bwe gwavaawo, ne wabaawo akaloboozi akatono ak'ekimpowooze. Awo Eliya bwe yawulira akaloboozi ako, ne yeebikka ku maaso omunagiro gwe, n'afuluma empuku, n'ayimirira ku mulyango gwayo. Olwo n'awulira eddoboozi nga limugamba nti: “Okola ki wano, Eliya?” Eliya n'addamu nti: “Nnumirwa nnyo ekitiibwa kyo, ayi Mukama, Katonda Nnannyinimagye, kubanga Abayisirayeli bamenye endagaano gye wakola nabo, bamenyeemenye zaalutaari zo, era basse abalanzi bo, era nze nzekka nze nsigaddewo, naye nange baagala kunzita.” Mukama n'amugamba nti: “Ddayo mu ddungu okumpi ne Damasiko. Bw'onootuukayo, ofuke omuzigo ku Hazayeeli afuuke kabaka wa Siriya, ogufuke ne ku Yeehu mutabani wa Nimusi afuuke kabaka wa Yisirayeli, era ogufuke ne ku Elisa mutabani wa Saafati ow'e Abeli Mehola afuuke omulanzi mu kifo kyo. Kale oyo anaawona okuttibwa Hazayeeli, anattibwa Yeehu, era anaawona okuttibwa Yeehu, anattibwa Elisa. Naye ndyesigalizaawo abantu kasanvu mu Yisirayeli, bonna abatafukaamiriranga Bbaali, era abatamunywegerangako.” Awo Eliya n'avaayo, n'asanga Elisa mutabani wa Saafati. Elisa yali alima. Emigogo gy'ente kkumi n'ebiri gyali awo mu maaso ge. Ye yali alimisa mugogo ogw'ekkumi n'ebiri. Eliya n'agenda w'ali, n'amusuulako omunagiro gwe. Elisa n'aleka awo ente, n'adduka mbiro okugoberera Eliya, n'agamba nti: “Ka mmale okunywegera kitange ne mmange okubasiibula, ndyoke mpitenga naawe.” Eliya n'amugamba nti: “Ddayo, ate nze nkugaanye?” Elisa eby'okugoberera Eliya n'asooka abivaako, n'addayo, n'addira omugogo gw'ente, n'azitta, n'afumba ennyama yaazo ng'ebikoligo byazo by'afudde enku, n'agigabula abantu, ne balya. Ebyo bwe byaggwa, Elisa n'asituka n'agenda n'abeeranga ne Eliya, n'amuweerezanga. Awo Benihadadi, kabaka wa Siriya, n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, ne yeegattibwako bakabaka abalala amakumi asatu mu babiri, nga balina embalaasi n'amagaali, n'ayambuka n'azingiza Samariya, n'akirwanyisa. N'atumira Ahabu, kabaka wa Yisirayeli ababaka mu kibuga okumugamba nti: “Kabaka Benihadadi agamba nti: ‘Ffeeza ne zaabu wo wange, ne bakazi bo n'abaana bo abasinga obulungi, bange.’ ” Awo Kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Weewaawo, mukama wange, ayi kabaka, nze ndi wuwo ne byonna bye nnina bibyo, nga bw'ogambye.” Awo ababaka ne bakomawo eri Ahabu ne bagamba nti: “Benihadadi agamba nti: ‘Kyamazima nakutumira nga ŋŋamba nti ojja kumpa ffeeza wo ne zaabu wo, ne bakazi bo n'abaana bo. Naye enkya, mu budde nga buno, nja kukutumira abakungu bange, baaze olubiri lwo n'amaka g'abakungu bo, era bwe banaatuuka, buli ekikusanyusa kye banaakwatako engalo, bajja kukitwala.’ ” Awo kabaka wa Yisirayeli n'ayita abakulembeze bonna mu ggwanga, n'abagamba nti: “Abange, mutegeere era mulabe ng'omusajja ono alina ky'atunoonyaako, kubanga yantumira nti mmuwe abakazi bange, n'abaana bange, ffeeza wange, ne zaabu wange, ne sibaako kye ŋŋaana kumuwa.” Abakulembeze bonna era n'abantu bonna ne bamuddamu nti: “Towuliriza ebyo, era tokkiriza.” Awo Ahabu n'agamba ababaka ba Benihadadi nti: “Mugambe mukama wange kabaka nti: ‘Byonna bye wasooka okuntumira, nze omuweereza wo, nja kubikola, naye kino siyinza kukikola.’ ” Ababaka ne bagenda ne baddiza Benihadadi obubaka. Awo Benihadadi n'amutumira ng'agamba nti: “Nja kuleeta basajja bange bazikirize Samariya, bakifuule nfuufu, ereme na kubabuna buli omu okuyoolayo olubatu. Ekyo bwe siikituukirize, balubaale bambonereze n'obukambwe.” Kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Mumugambe nti: ‘Oyo abagalira ebyokulwanyisa okugenda mu lutalo, aleme kwenyumiriza ng'oyo abiwummuza ng'aluwangudde.’ ” Obubaka obwo Benihadadi yabuwulira nga ye ne bakabaka abo abaamwegattako bali mu nsiisira zaabwe banywa omwenge. N'alagira basajja be nti: “Mweteeketeeke!” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga. Mu kiseera ekyo ne wabaawo omulanzi eyajja eri Ahabu kabaka wa Yisirayeli, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Olabye eggye eryo lyonna eddene? Nja kuliwaayo mu mikono gyo olwaleero, olyoke omanye nga Nze Mukama.’ ” Ahabu n'abuuza nti: “Baani abanaalirumba?” Omulanzi n'addamu nti: “Mukama agamba nti: ‘Abavubuka, abaweereza b'abafuzi b'ebitundu.’ ” Kabaka n'abuuza nti: “Ani anaasooka okulumba mu lutalo?” Omulanzi n'addamu nti: “Ggwe.” Awo Kabaka Ahabu n'abala mu bavubuka abaweereza b'abafuzi b'ebitundu, okumanya b'alinawo, ne baba ebikumi bibiri mu asatu mu babiri. N'oluvannyuma n'abala mu b'eggye lya Yisirayeli bonna, nga bawera kasanvu. Ne balumba mu ttuntu, nga Benihadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri abajja okumuyamba mu lutalo, bali mu nsiisira banywa, beggweera! Abavubuka, abaweereza b'abafuzi b'ebitundu, ne basooka okulumba. Benihadadi n'atuma abakessi, ne bamubuulira nti waliwo abasajja abavudde mu Samariya. N'alagira nti: “Ne bwe banaaba bazze kusaba mirembe, mubawambe mubaleete nga balamu, ne bwe banaaba bazze kulwana, era mubawambe mubaleete nga balamu.” Kale abavubuka, abaweereza b'abafuzi b'ebitundu ne bafuluma ekibuga, n'eggye ne libagoberera. Buli omu ku bo n'atta omuntu gwe yalwanyisa. Abasiriya ne badduka, Abayisirayeli ne babawondera. Benihadadi kabaka wa Siriya n'awona ng'addukidde ku mbalaasi, awamu n'ab'eggye lye abeebagala embalaasi. Kabaka wa Yisirayeli n'agenda ne yeetaba mu lutalo, n'azikiriza embalaasi n'amagaali, n'atta Abasiriya bangi nnyo. Awo omulanzi oli n'agenda eri kabaka wa Yisirayeli, n'amugamba nti: “Genda weenyweze, weetegereze olabe ky'onookola, kubanga omwaka bwe gunaaba gutandika, kabaka wa Siriya ajja kudda akulumbe.” Awo abakungu ba kabaka wa Siriya ne bamugamba nti: “Lubaale w'Abayisirayeli, lubaale wa ku nsozi, kyebaava batusinga amaanyi. Naye tubalwanyisize mu lusenyi, olwo mazima tujja kubasinga amaanyi. Era kino ky'oba okola: ggyawo bakabaka, buli omu mu kifo mw'obadde omutadde, mu kifo kyabwe oteekewo abaduumizi b'amagye. Era bala oweze eggye eryenkanankana n'eggye lye wafiirwa: awaali embalaasi, ozzeewo embalaasi, n'awaali eggaali, ozzeewo eggaali, tubalwanyisize mu lusenyi, tetuuleme kubasinga maanyi.” Kabaka Benihadadi n'akkiriza amagezi ge baamuwa, n'agagoberera. Omwaka bwe gwali nga gutandika, n'akuŋŋaanya Abasiriya, n'agenda nabo mu Afeki okulwanyisa Abayisirayeli. N'Abayisirayeli ne bakuŋŋaanyizibwa, ne baweebwa entanda yaabwe ey'emmere, ne bagenda okulwanyisa Abasiriya abo. Abayisirayeli ne basiisira okuboolekera nga bali ng'obugana bw'embuzi obuto bubiri, naye Abasiriya nga babunye wonna. Awo omusajja wa Katonda n'ajja n'agamba Ahabu kabaka wa Yisirayeli nti: “Mukama agamba nti: ‘Kubanga Abasiriya bagambye nti: Mukama lubaale wa ku nsozi, sso si wa mu biwonvu, eggye lyabwe lino lyonna eddene kyennaava ndiwaayo mu mikono gyo, mmwe mulyoke mumanye nga Nze Mukama.’ ” Abasiriya n'Abayisirayeli ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw'omusanvu, ne balumbagana. Mu lunaku lumu, Abayisirayeli ne batta mu ggye lya Siriya abaserikale emitwalo kkumi abatambula ku bigere. Abaawonawo ne baddukira mu Kibuga Afeki. Eyo ate ekisenge ky'ekibuga ne kigwa ku batabaazi emitwalo ebiri mu kasanvu. Benihadadi n'adduka, n'atuuka mu kibuga, ne yeekweka mu kisenge ekyomunda. Abakungu be ne bamugamba nti: “Tuwulidde nga bakabaka ba Yisirayeli baba ba kisa. Tusaba otukkirize twesibe ebikutiya mu biwato, n'emiguwa ku mitwe gyaffe, tugende eri kabaka wa Yisirayeli, oboolyawo anaawonya obulamu bwo.” Awo ne beesiba ebikutiya mu biwato, ne batikkira emiguwa ku mitwe gyabwe, ne bajja eri kabaka wa Yisirayeli, ne bagamba nti: “Omuweereza wo Benihadadi agamba nti: ‘Nkwegayiridde, ndekera obulamu bwange.’ ” Ahabu n'addamu nti: “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.” Abasajja abo baali bafuba nnyo okwetegereza ky'anaayogera. Ahabu bwe yagamba nti: “Oyo muganda wange,” amangwago ne bakyesibako ne bagamba nti: “Weewaawo, Ssaabasajja, Benihadadi muganda wo.” Ahabu n'agamba nti: “Mugende mumuleete.” Benihadadi n'avaayo, n'ajja gy'ali. Ahabu n'amulinnyisa mu ggaali lye. Awo Benihadadi n'amugamba nti: “Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo, nze nja kubikuddiza, era bw'onooyagala oneezimbira obutale mu Damasiko, nga kitange bwe yeezimbira mu Samariya.” Ahabu n'agamba nti: “Ku kakalu ako, nja kukuta.” Awo n'akola naye endagaano, n'amuta. Awo omusajja omu ku balanzi, nga Mukama ye amulagidde n'agamba munne nti: “Nkwegayiridde, nfumita.” Kyokka munne n'agaana. Awo n'amugamba nti: “Nga bw'ojeemedde ekiragiro kya Mukama, bw'onooba nga kyojje ove we ndi, empologoma ejja kukutta.” Era bwe yali nga kyajje ave ono w'ali, empologoma n'emutta. Awo omulanzi oyo n'asanga omusajja omulala, n'amugamba nti: “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n'amufumita, n'amuteekako ekiwundu. Awo omulanzi ne yeebikka ekiremba ku maaso ne yeebuzaabuza, n'agenda n'alindirira kabaka ku kkubo. Kabaka bwe yali ayitawo, omulanzi n'amukoowoola, n'agamba nti: “Nze omuweereza wo bwe nali mu lutalo mu ddwaniro, omutabaazi omu n'ava eri n'andeetera omusajja, era n'aŋŋamba nti: ‘Kuuma omusajja ono. Bw'alibomba, obulamu bwo bw'olisasulamu obubwe, oba oliriwa talanta nnamba eya ffeeza.’ Awo nze omuweereza wo, bwe nali nga ntawaana eno n'eri, omusajja n'abomba.” Kabaka wa Yisirayeli n'amugamba nti: “Omusango ggwe ogwesalidde ggwe wennyini.” Awo omulanzi n'aggya mangu ekiremba ku maaso ge. Kabaka wa Yisirayeli bwe yamulaba, n'amutegeera nga ye omu ku balanzi. Omulanzi n'agamba kabaka nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bwe wata omusajja gwe nalagira attibwe, n'omuleka n'agenda, obulamu bwo bw'onoosasuza obubwe, n'abantu bo be banadda mu kifo ky'abantu be.’ ” Awo kabaka wa Yisirayeli n'addayo ewuwe ng'anyiikadde era ng'anyiize, n'agenda e Samariya. Ebyo nga biwedde, waaliwo Naboti ow'e Yezireeli eyalina ennimiro y'emizabbibu okumpi n'olubiri lwa Ahabu kabaka w'e Samariya. Awo Ahabu n'ayogera ne Naboti, ng'agamba nti: “Mpa ennimiro yo ey'emizabbibu. Nga bw'eri okumpi n'olubiri lwange, njagala efuuke ennimiro yange ey'enva. Nze mu kifo kyayo, nja kukuwaamu ennimiro endala ey'emizabbibu esingako obulungi. Oba bw'onoosiima, nja kukusasulamu omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu.” Awo Naboti n'agamba Ahabu nti: “Kikafuuwe, nze okukuwa omugabo ogwaweebwa bajjajjange.” Ahabu n'addayo ewuwe ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Naboti ow'e Yezireeli ky'amugambye nti: “Sijja kukuwa mugabo ogwaweebwa bajjajjange.” N'agalamira ku kitanda kye, n'atunula eri, n'agaana n'okulya emmere. Mukazi we Yezebeeli n'ajja gy'ali n'amubuuza nti: “Kiki ekikunakuwazizza obwenkanidde awo, n'otuuka n'obutalya mmere?” Ahabu n'addamu nti: “Kubanga njogedde ne Naboti ow'e Yezireeli ne mmugamba nti: ‘Mpa ennimiro yo ey'emizabbibu ng'oginguza, oba bw'osiima, nkuweemu ennimiro endala ey'emizabbibu mu kifo kyayo,’ n'addamu nti: ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey'emizabbibu.’ ” Yezebeeli mukazi we n'amuddamu nti: “Si ggwe ofuga Yisirayeli kaakano? Golokoka olye ku mmere, n'omutima gwo gukukke. Nze nja kukuwa ennimiro y'emizabbibu eya Naboti Omuyezireeli.” Awo Yezebeeli n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Ahabu, n'azissaako akabonero ka Ahabu, n'aziweereza abakulembeze n'abakungu ab'omu kibuga Naboti mw'abeera. Mu bbaluwa ezo, yawaandiika nti: “Mulangirire olunaku olw'okusiiba, muyite abantu bakuŋŋaane, era muwe Naboti ekifo eky'oku mwanjo. Muleete mu maaso ge abasajja babiri abataliimu nsa, bamulumirize nti: ‘Wavuma Katonda ne kabaka!’ Olwo mulyoke mumuggyewo, mumukube amayinja, afe.” Awo abantu b'omu kibuga Yezireeli, abakulembeze n'abakungu, ne bakola nga Yezebeeli bwe yabalagira mu bbaluwa ze yabaweereza. Ne balangirira olunaku olw'okusiiba, ne bayita abantu, abantu ne bakuŋŋaana, ne bateeka Naboti mu kifo eky'oku mwanjo. Abasajja babiri ne batuula mu maaso ge. Abasajja abo ne bamulumiriza mu maaso g'abantu nga bagamba nti: “Naboti yavuma Katonda ne kabaka.” Abantu ne bamutwala ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja, n'afa. Ne batumira Yezebeeli nti: “Naboti akubiddwa amayinja, era afudde.” Yezebeeli bwe yawulira nga Naboti akubiddwa amayinja, era ng'afudde, n'agamba Ahabu nti: “Situka, ogende weefunire ennimiro ey'emizabbibu eya Naboti Omuyezireeli, gye yagaana okukuguza, kubanga Naboti oyo takyali mulamu, wabula mufu wa jjo!” Ahabu bwe yawulira nga Naboti afudde, n'asituka okugenda okwefunira ennimiro y'emizabbibu eya Naboti oyo Omuyezireeli. Awo Mukama n'agamba Eliya Omutisubi nti: “Situka, ogende osisinkane Ahabu kabaka wa Yisirayeli abeera mu Samariya. Kaakano ali mu nnimiro y'emizabbibu eya Naboti. Onoomugamba nti: ‘Mukama agamba nti: Otemudde omuntu, era otutte n'ebibye?’ Era onoomugamba nti: ‘Mukama agamba nti: Mu kifo embwa mwe zaakombedde omusaayi gwa Naboti, era mwe zinaakombera n'omusaayi gwo ggwe.’ ” Awo Ahabu n'agamba Eliya nti: “Ongwikirizza, ggwe omulabe wange?” Eliya n'addamu nti: “Nkugwikirizza. Nga bwe weeweereddeyo ddala okukola ebitasanyusa Mukama, kale kaakano Mukama akugamba nti: ‘Nja kukutuusaako akabi, nkusaanyizeewo ddala ggwe Ahabu. Era ndimalawo mu Yisirayeli buli mwana wo ow'obulenzi omuto n'omukulu. Ab'ennyumba yo ndibafuula ng'ab'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, era ng'ab'ennyumba ya Baasa mutabani wa Ahiya, kubanga wansunguwaza olw'okuleetera Yisirayeli okwonoona.’ Ne ku Yezebeeli, Mukama agamba nti: ‘Embwa zinaaliira Yezebeeli kumpi n'ekisenge ky'ekibuga Yezireeli. Owuwo ggwe Ahabu, anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'oyo anaafiira ku ttale, ebinyonyi binaamulya.’ ” Ddala tewali yatuuka ku Ahabu mu kweweerayo ddala kukola bitasiimibwa Mukama. Mukazi we Yezebeeli ye yamupikirizanga okubikola. Ahabu n'akolanga ebyenyinyalwa ennyo, ng'asinza ebifaananyi, ng'Abaamori, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka. Ahabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'ayambala bikutiya ku mubiri gwe. N'atalya mmere, n'asula mu bikutiya, n'atambula mpola ng'anyiikadde ng'agenda. Mukama n'agamba Eliya Omutisubi nti: “Olabye Ahabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kale nga bwe yeetoowazizza mu maaso gange, akabi sirikaleeta mu mulembe gwe, wabula ndikaleeta ku b'ennyumba ye mu mulembe gwa mutabani we.” Awo ne bamala emyaka esatu nga tewali lutalo wakati wa Siriya ne Yisirayeli. Naye mu mwaka ogwokusatu, Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'agenda ewa kabaka wa Yisirayeli. Awo kabaka wa Yisirayeli n'agamba abakungu be nti: “Mumanyi nga Ramoti-Gileyaadi kyaffe. Naye lwaki tusirise ne tutakiggya mu mikono gya kabaka wa Siriya?” N'abuuza Yehosafaati nti: “Onoogenda nange e Ramoti-Gileyaadi okulwana olutalo?” Yehosafaati n'amuddamu nti: “Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.” Kyokka Yehosafaati era n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nsaba omale kwebuuza ku Mukama, owulire ky'agamba.” Awo kabaka wa Yisirayeli n'akuŋŋaanya abalanzi abasajja ng'ebikumi bina, n'ababuuza nti: “Nnumbe Ramoti-Gileyaadi oba sikirumba?” Ne baddamu nti: “Genda okirumbe, Mukama ajja kukikuwa okiwangule.” Naye Yehosafaati n'agamba nti: “Tewakyaliwo wano mulanzi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Wakyaliwo omusajja omu gwe tuyinza okuyitamu okwebuuza ku Mukama. Oyo ye Mikaaya, mutabani wa Yimula. Kyokka simwagala, kubanga talangangako birungi ku nze, wabula ebibi.” Yehosafaati n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, toyogera bw'otyo.” Awo kabaka wa Yisirayeli n'ayita omukungu we, n'amugamba nti: “Yanguwa oleete wano Mikaaya mutabani wa Yimula.” Kabaka wa Yisirayeli, ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka ne batuula buli omu ku ntebe ye ey'obwakabaka, mu mbuga eri okumpi n'omulyango omunene ogwa Samariya. Abalanzi bonna ne balanga mu maaso gaabwe. Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amayembe gano g'oneeyambisa okulwanyisa Abasiriya okutuusa lw'olibasaanyaawo.’ ” N'abalanzi abalala bonna ne balanga bwe batyo, nga bagamba nti: “Genda olumbe Ramoti-Gileyaadi, okiwangule. Mukama ajja kukikuwa okiwangule.” Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'agamba Mikaaya nti: “Abalanzi abalala bonna ebigambo bye boogedde ku kabaka birungi. Balanze nti kabaka ajja kuwangula. Nkwegayirirdde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere birungi.” Kyokka Mikaaya n'agamba nti: “Mu mazima nga Mukama bw'ali omulamu, nja kwogera ekyo Mukama ky'anaŋŋamba okwogera.” Mikaaya bwe yatuuka mu maaso ga kabaka, kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, tulumbe Ramoti-Gileyaadi tukirwanyise, oba tulekeyo?” Mikaaya n'amuddamu nti: “Lumba, ojja kuwangula, Mukama ajja kukiwaayo mu mikono gyo, ayi Ssaabasajja!” Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaakulayiza emirundi emeka obutambuulira kirala kyonna wabula amazima mu linnya lya Mukama?” Mikaaya n'agamba nti: “Ndabye abaserikale ba Yisirayeli bonna nga basaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba, Mukama n'agamba nti: ‘Abantu abo tebalina mukulembeze, buli omu addeyo mirembe mu maka ge.’ ” Awo kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Saakugambye nti taalange birungi ku nze, wabula ebibi?” Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti: “Kale wulira ekigambo kya Mukama. Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka, ng'eggye lyonna ery'omu ggulu liyimiridde ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono. Mukama n'abuuza nti: ‘Ani anaasendasenda Ahabu ayambuke e Ramoti-Gileyaadi attibwe?’ Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri. Awo ne wavaayo omwoyo, ne guyimirira mu maaso ga Mukama, ne gugamba nti: ‘Nze nja kumusendasenda.’ Mukama n'agubuuza nti: ‘Mu ngeri ki?’ Ne guddamu nti: ‘Nja kugenda njogeze abalanzi be bonna eby'obulimba.’ Mukama n'agamba nti: ‘Ojja kusobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.’ ” Mikaaya n'afundikira ng'agamba nti: “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa k'abalanzi bo bonna, era ggwe akwogeddeko bya kabi.” Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana, n'asemberera Mikaaya, n'amukuba oluyi n'amugamba nti: “Mwoyo wa Mukama yampitako atya n'ayogera naawe?” Mikaaya n'addamu nti: “Ddala, ekyo olikimanya ku lunaku lw'oliyingirirako mu kisenge ekyomunda okwekweka.” Awo kabaka wa Yisirayeli n'alagira nti: “Mukwate Mikaaya mumutwale ewa Amoni omukulu w'ekibuga, n'omulangira Yowaasi, mubagambe nti: ‘Kabaka alagidde nti akasajja ako mukateeke mu kkomera. Emmere n'amazzi mukawe mpa we bizira, okutuusa nga nkomyewo mirembe.’ ” Awo Mikaaya n'agamba nti: “Bw'olikomawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti: “Muwulire, abantu mwenna, kye njogedde.” Awo kabaka wa Yisirayeli ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, ne balumba ekibuga Ramoti-Gileyaadi. Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Okuyingira mu lutalo, nze nja kugenda nga nneebuzizzabuzizza nfaanane ng'omuntu omulala, naye ggwe ojja kwambala ebyambalo byo eby'obwakabaka.” Awo ne bagenda mu lutalo, nga kabaka wa Yisirayeli yeebuzaabuzizza afaanana muntu mulala. Kabaka wa Siriya yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge amakumi asatu mu abiri ag'entalo nti: “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.” Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yehosafaati ne balowooza nti ye kabaka wa Yisirayeli, ne bakyuka okumulwanyisa. Yehosafaati n'alaajana nnyo. Abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Yisirayeli, ne balekera awo okumuwondera. Kyokka ne wabaawo omusajja omu eyasika omutego gwe, n'amala galasa akasaale, ne kakwasa kabaka wa Yisirayeli, awo ekyambalo kye eky'ekyuma we kigattira mu kifuba. Kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti: “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga banfumise.” Olutalo ne lunyinnyittira nnyo ku lunaku olwo. Kabaka wa Yisirayeli ne bamukwatirira mu ggaali lye okwolekera Abasiriya. Omusaayi ne guva mu kiwundu kye ne gukulukutira mu ggaali lye, n'akisa omukono akawungeezi ako. Enjuba ng'eneetera okugwa, ne kirangirirwa mu ggye lyonna erya Yisirayeli nti: “Buli muntu addeyo mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kibuga ky'ewaabwe.” Bw'atyo Kabaka Ahabu n'akisa omukono, n'aleetebwa e Samariya, n'aziikibwa. Ne booleza eggaali lye ku kidiba ky'e Samariya, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ne bamalaaya ne banaabira eyo, nga Mukama bwe yagamba. N'ebirala byonna Ahabu bye yakola, n'ennyumba gye yazimba n'agitimba n'amasanga, n'ebibuga byonna bye yazimba, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Bw'atyo Ahabu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, Ahaaziya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogwokuna nga Ahabu ye kabaka wa Yisirayeli, Yehosafaati mutabani wa Asa n'afuuka kabaka wa Buyudaaya. Yali wa myaka asatu mu etaano, era yafugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemu. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siluhi. Yehosafaati yali wa mpisa nnungi nga Asa kitaawe. N'atazivaamu, n'akolanga ebirungi Mukama by'asiima. Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu tebyaggyibwawo. Abantu baasigala bakyaweerayo ebitambiro era nga bakyayotereza obubaane mu bifo ebyo. Era Yehosafaati n'akola endagaano ey'emirembe ne kabaka wa Yisirayeli. N'ebirala byonna Yehosafaati bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, n'entalo ze yalwana, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Yehosafaati n'amalirawo ddala mu nsi ye abasajja abaakolanga obwamalaaya ku basajja bannaabwe, abaali basigaddewo ku mulembe gwa Asa kitaawe. Mu kiseera ekyo, ensi ya Edomu teyalina kabaka, wabula yafugibwanga musigire eyateekebwangawo kabaka wa Buyudaaya. Yehosafaati n'akola empingu y'amaato agasobola ennyanja ennene, ag'okugendanga mu Ofiri okukimayo zaabu, kyokka ne gatagenda, kubanga gaamenyekera mu Eziyonigeberi. Awo Ahaaziya mutabani wa Ahabu n'agamba Yehosafaati nti: “Abaweereza bange ka bagende wamu n'ababo mu mpingu z'amaato.” Kyokka Yehosafaati n'atakkiriza. Yehosafaati n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe, mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, mutabani we Yehoraamu n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu nga Yehosafaati ye kabaka wa Buyudaaya, Ahaaziya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri mu Samariya. N'akola ebibi, n'anyiiza Mukama, ng'agoberera empisa embi eza Ahabu kitaawe n'eza Yezebeeli nnyina, n'eza Yerobowaamu mutabani wa Nebaati eyaleetera Yisirayeli okwonoona. Ahaaziya n'afuuka omuweereza wa Bbaali era n'amusinzanga, n'asunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ngeri ye emu nga kitaawe bwe yakola. Kabaka Ahabu bwe yamala okukisa omukono, ensi ya Mowaabu n'ejeemera Yisirayeli. Kabaka Ahaaziya owa Yisirayeli, n'awanuka ku lubalaza olwawaggulu, ku nnyumba ye eyaakalina mu lubiri lwe e Samariya, n'agwa wansi, n'alumizibwa nnyo. N'atuma ababaka, n'abagamba nti: “Mugende mwebuuze ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni, oba nga nnaawona ebisago bino.” Naye malayika wa Mukama n'agamba Eliya Omutisubi nti: “Situka ogende osisinkane ababaka ba Kabaka w'e Samariya, obagambe nti: ‘Mugenda okwebuuza ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni kubanga tewali Katonda mu Yisirayeli?’ Kale nno mugambe Kabaka nti Mukama agamba nti: ‘Tojja kuva ku ndiri gy'oliko, Oli wa kufa.’ ” Eliya n'agenda. Ababaka ne bakomawo eri Kabaka, n'ababuuza nti: “Kiki ekibakomezzaawo?” Ne bamuddamu nti: “Omusajja azze n'atusisinkana, n'atugamba nti: ‘Muddeeyo eri Kabaka abatumye, mumugambe nti Mukama agamba nti otumye okwebuuza ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni kubanga tewali Katonda mu Yisirayeli? Kale nno tojja kuva ku ndiri gy'oliko. Oli wa kufa.’ ” Kabaka n'ababuuza nti: “Omusajja azze okubasisinkana n'abagamba ebigambo ebyo abadde afaanana atya?” Ne bamuddamu nti: “Abadde musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye.” Kabaka n'agamba nti: “Ye Eliya Omutisubi.” Awo Kabaka n'atuma omukungu akulira abasajja amakumi ataano, ayambuke ne basajja be ataano, aleete Eliya. Omukungu oyo n'ayambuka, n'asanga Eliya ng'atudde ku ntikko y'olusozi, n'amugamba nti: “Ggwe omusajja wa Katonda, Kabaka alagidde nti: ‘Wanukayo.’ ” Eliya n'addamu omukungu oyo akulira abasajja ataano nti: “Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye gukutte ggwe ne basajja bo amakumi ataano.” Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ne gumutta, ye ne basajja be amakumi ataano. Awo Kabaka n'atuma omukungu omulala akulira abasajja amakumi ataano ne basajja be amakumi ataano okuleeta Eliya. Omukungu oyo n'ayambuka, n'agamba Eliya nti: “Ggwe omusajja wa Katonda, Kabaka alagidde nti: ‘Wanukayo mangu.’ ” Eliya n'abaddamu nti: “Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye gukutte, ggwe ne basajja bo amakumi ataano.” Katonda n'asindika omuliro okuva mu ggulu, ne gwokya omukungu oyo ne gumutta, ne basajja be amakumi ataano. Kabaka era n'atuma omukungu omulala ne basajja be amakumi ataano b'akulira. Omukungu oyo owookusatu akulira abasajja amakumi ataano, n'ayambuka ku lusozi, n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eliya, n'amwegayirira ng'agamba nti: “Ayi ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde otukwatirwe ekisa, nze n'abaweereza bo bano amakumi ataano, owonye obulamu bwaffe. Omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya era ne gutta abakungu bombi abakulira abasajja amakumi ataano ataano abaasoose, wamu ne basajja baabwe. Naye kaakano, nsaba owonye obulamu bwange.” Awo malayika wa Mukama n'agamba Eliya nti: “Serengeta wamu naye, tomutya.” Eliya n'asituka n'aserengeta wamu n'omukungu, n'agenda eri Kabaka, n'amugamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bwe watuma ababaka okwebuuza ku Baalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni, ng'awatali Katonda mu Yisirayeli, tojja kuva ku ndiri gy'oliko, naye oli wa kufa.’ ” Ahaaziya n'akisa omukono, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Eliya. Ahaaziya teyalina mwana wa bulenzi, muganda we Yehoraamu n'amusikira ku bwakabaka, mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Yehoraamu mutabani wa Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya. N'ebirala byonna Kabaka Ahaaziya bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Awo ekiseera bwe kyatuuka Mukama okutwala Eliya mu ggulu, ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu, Eliya ne Elisa ne bava e Gilugaali. Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Nkusaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye e Beteli.” Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, Mukama nga bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako!” Ne bagenda e Beteli. Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Beteli ne batuukirira Elisa ne bamubuuza nti: “Omanyi nga Mukama olwaleero ajja kukuggyako mukama wo amutwale?” Elisa n'addamu nti: “Weewaawo mmanyi. Mmwe musirike!” Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Elisa, nsaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye e Yeriko.” Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagenda e Yeriko. Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Yeriko ne batuukirira Elisa, ne bamubuuza nti: “Omanyi nga Mukama olwaleero ajja kukuggyako mukama wo, amutwale?” Elisa n'addamu nti: “Weewaawo mmanyi. Mmwe musirike.” Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Nkusaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye ku Mugga Yorudaani.” Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako!” Awo ne bagenda bombi, ne bayimirira ku Yorudaani. Abasajja amakumi ataano ab'ekibiina ky'abalanzi nabo ne bagenda, ne bayimirira walako, ne babatunuulira. Awo Eliya n'akwata omunagiro gwe, n'aguzinga wamu, n'agukozesa okukuba ku mazzi, amazzi ne geeyawulamu wabiri erudda n'erudda, bombi ne bayita awakalu okugenda emitala w'eri. Bwe baatuuka emitala w'eri, Eliya n'agamba Elisa nti: “Saba kye mba nkukolera nga sinnakuggyibwako.” Elisa n'addamu nti: “Nkwegayiridde kkiriza nfune emigabo ebiri egy'obuyinza bwo, nfuuke omusika wo.” Eliya n'agamba nti: “Ky'osabye kizibu. Naye bw'onondaba nga nkuggyibwako, ng'okifunye. Naye bw'otondabe, olwo nga tokifunye.” Bwe baali batambula nga banyumya, amangwago ne wajjawo eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne bibaawulamu bombi, Eliya n'atwalibwa mu ggulu ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu. Elisa n'akiraba, n'agamba nti: “Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Yisirayeli, ogenze!” N'ataddamu kumulaba. Elisa n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri olw'okunakuwala. N'alonda omunagiro gwa Eliya gw'asudde, n'addayo, n'ayimirira ku lubalama lw'Omugga Yorudaani. N'akozesa omunagiro gwa Eliya okukuba ku mazzi ng'agamba nti: “Mukama, Katonda wa Eliya aluwa? Yee ddala aluwa?” Bwe yakuba ku mazzi, ne geeyawulamu wabiri erudda n'erudda, Elisa n'asomoka emitala w'eri. Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Yeriko bwe baamulaba, ne bagamba nti: “Obuyinza bwa Eliya buli ku Elisa.” Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge, ne bamugamba nti: “Tulina wano abasajja amakumi ataano ab'amaanyi, abaweereza bo. Tukwegayiridde bakkirize bagende banoonye mukama wo, oboolyawo Mwoyo wa Mukama yamusitudde n'amuteeka ku lusozi oba mu kiwonvu.” Elisa n'abaddamu nti: “Nedda. Temubatuma.” Ne bongera okumwegayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata n'agamba nti: “Kale mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonyeza Eliya ennaku ssatu, kyokka ne batamulaba. Ne bakomawo eri Elisa ng'akyalinda e Yeriko, n'abagamba nti: “Ssaabagamba nti temugenda?” Awo abasajja abamu ab'omu kibuga Yeriko ne basemberera Elisa, ne bamugamba nti: “Ssebo, wano awali ekibuga kino walungi, naawe nga bw'olaba. Naye amazzi gaawo mabi, n'ettaka terikuza mmere.” Elisa n'agamba nti: “Muteeke omunnyo mu kasumbi akapya mukandeetere wano.” Ne bakaleeta w'ali. N'agenda awali ensulo z'amazzi, n'asuulamu omunnyo, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amazzi gano ngafudde amalamu. Mu go temukyaddamu kuvaamu lumbe wadde obutakuza mmere.’ ” Okuva olwo amazzi ago ne gaba amalamu, nga Elisa bwe yagamba. Awo Elisa n'ava e Yeriko, n'agenda e Beteli. Bwe yali ng'atambula mu kkubo, abavubuka abalalulalu ne bava mu kibuga ne bamusekerera nga bagamba nti: “Genda ggwe kawalaata, vva wano ggwe kawalaata!” Elisa n'akyuka n'atunula emabega n'abalaba, n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo eddubu bbiri ne ziva mu kibira, ne zitaagula abaana amakumi ana mu babiri ku bo. Awo Elisa n'avaayo n'alaga ku lusozi Karumeeli, oluvannyuma n'avaayo n'adda e Samariya. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana nga Yehosafaati ye kabaka wa Buyudaaya, Yehoraamu mutabani wa Ahabu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi n'ebiri. N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, wabula teyali mubi kwenkana kitaawe, wadde okwenkana Yezebeeli nnyina, kubanga yamenyawo empagi ya lubaale Baali, kitaawe gye yakola. Kyokka, ne Yehoraamu, okufaanana nga Yerobowaamu, mutabani wa Nebaati, n'akola ebibi ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, era n'atabivaamu. Meesa kabaka wa Mowaabu yali mulunzi wa ndiga. Buli mwaka yawangayo eri kabaka wa Yisirayeli omusolo gwa ndiga ento emitwalo kkumi, n'ebyoya by'endiga ebyavanga ku ndiga ennume emitwalo kkumi. Kyokka Kabaka Ahabu, kabaka wa Yisirayeli, bwe yakisa omukono, Meesa kabaka wa Mowaabu n'ajeemera kabaka wa Yisirayeli. Kabaka Yehoraamu n'ava mu Samariya, n'akuŋŋaanya eggye lye mu Yisirayeli yonna. N'atumira Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'agamba nti: “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Ononneegattako mu lutalo okumulwanyisa?” Kabaka Yehosafaati n'addamu nti: “Weewaawo, nja kukwegattako. Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.” N'ababuuza nti: “Tunaakwata kkubo ki okulumba?” Yehoraamu n'addamu nti: “Kkubo ery'omu ddungu lya Edomu.” Awo kabaka wa Yisirayeli n'agenda wamu ne kabaka wa Buyudaaya, ne kabaka wa Edomu. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu nga bagenda beetooloola. Ne wataba mazzi ga kuwa ggye wadde ensolo ze baali nazo. Kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Zitusanze! Mukama atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu okutugabula mu mikono gya Mowaabu.” Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'abuuza nti: “Tewali wano mulanzi wa Mukama gwe tuyinza kuyitamu okwebuuza ku Mukama?” Omu ku bakungu ba kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Elisa mutabani wa Saafati eyali omuweereza wa Eliya, w'ali wano.” Kabaka Yehosafaati n'agamba nti: “Katonda ayogera ng'ayita mu oyo.” Awo Kabaka owa Yisirayeli, ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, ne kabaka wa Edomu ne bagenda eri Elisa. Elisa n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nnina nkolagana ki naawe? Genda mu balaguzi ba kitaawo, ne mu balaguzi ba nnyoko.” Kyokka kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Nedda, sijja kugenda eyo, kubanga Mukama ye ayise bakabaka bano abasatu okubawaayo mu mikono gya Mowaabu.” Elisa n'agamba nti: “Mu mazima ga Katonda Nnannyinimagye era omulamu, gwe mpeereza, ddala singa si kafansonyi ke nkwatirwa Yehosafaati, kabaka wa Buyudaaya, sandikufuddeko, era sandikulabye. Naye kaakano, ndeetera omukubi w'ennanga.” Omukubi w'ennanga bwe yakuba, amaanyi ga Mukama ne gajja ku Elisa. N'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Ekiwonvu ekikalu nja kukijjuza enzizi z'amazzi.’ ” Mukama ayongera n'agamba nti: “Temujja kulaba ku mbuyaga, era temujja kulaba ku nkuba. Naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi, munywe mmwe n'ensolo zammwe. Ate nno ekyo kitono nnyo mu maaso ga Mukama. Era ajja kuwaayo Abamowaabu mu mikono gyammwe. Mujja kumenya buli kibuga ekiriko ekigo ekigumu, na buli kibuga ekirabika obulungi, ne mutema buli muti omulungi, ne muziba enzizi zonna ez'amazzi, era ne mujjuza amayinja mu buli musiri omulungi mugwonoone.” Enkeera, mu kiseera eky'okuwaayo ekitambiro, baalabira awo ng'amazzi gajja nga gava ku ludda lwa Edomu, amazzi ne gajjula mu kitundu ekyo kyonna. Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka abasatu bazze okubalwanyisa, ne bakuŋŋaanya bonna abakulu n'abato abaali bayinza okubagalira ebyokulwanyisa, ne baleetebwa ku nsalo. Abamowaabu bwe baagolokoka enkeera mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi agaboolekedde, ne balaba nga gamyuse ng'omusaayi. Ne bagamba nti: “Guno musaayi! Mazima bakabaka baalwanaganye, abantu baabwe bonna ne battiŋŋana. Abange Abamowaabu, mugire tugende ku munyago!” Naye bwe baatuuka ku lusiisira lwa Yisirayeli, Abayisirayeli ne basituka ne bakuba Abamowaabu ne babatwala misinde. Abamowaabu ne badduka, Abayisirayeli ne babawondera okubatuusiza ddala mu nsi yaabwe nga bagenda babatta. Abayisirayeli ne bazikiriza ebibuga, buli omu n'akasuka ejjinja mu bulime obulungi okutuusa nga babujjuzza amayinja. Ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi. Mu Kiruhareseti mwokka mwe baaleka amayinja gaamu, kyokka ab'envuumuulo ne bakyetooloola, ne bakiwangula. Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng'olutalo lumugendedde bubi, n'atwala abasajja lusanvu abalwanyisa ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, kyokka ne batayinza. Awo n'addira mutabani we asinga obukulu eyali ow'okumusikira ku bwakabaka, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo nga kiramba n'ayokerwa ku kisenge ekyetooloola ekibuga. Abayisirayeli ne basunguwalirwa nnyo, ne balekera awo okumulwanyisa, ne baddayo mu nsi y'ewaabwe. Awo nnamwandu w'omu ku b'ekibiina ky'abalanzi n'akaabirira Elisa ng'agamba nti: “Omuweereza wo, baze, yafa. Era omanyi omuweereza wo oyo nga bwe yali assaamu ennyo Mukama ekitiibwa. Naye kaakano omuntu eyali amubanja azze okutwala abaana bange bombi abafuule abaddu be.” Elisa n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki? Mbulira, olinayo ki mu nnyumba yo?” Omukazi n'addamu nti: “Nze omuweereza wo, sirinaayo kantu na kamu, okuggyako akasumbi akalimu omuzigo.” Elisa n'agamba nti: “Genda weeyazike mu banno bonna ab'omuliraano ebintu ebikalu ebiwerako, mw'osobola okuttululira omuzigo, oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ne batabani bo, ottululire omuzigo mu bintu ebyo byonna, otereke ebijjudde.” Omukazi n'ava ewa Elisa, n'agenda mu nnyumba ye ne batabani be. N'akwata akasumbi akalimu omuzigo, batabani be ne bamuleetera eby'okuttululiramu, n'attulula. By'attuliramu bwe byajjula, n'agamba omu ku batabani be nti: “Ndeetera eky'okuttululiramu ekirala.” Omwana n'amugamba nti: “Tewakyali kittululirwamu kirala.” Awo omuzigo ne gukoma. Omukazi n'ajja n'abibuulira omusajja wa Katonda. Ye n'amugamba nti: “Genda otunde omuzigo ogwo, osasule ebbanja ly'olina, ekinaafikkawo, kikuyimirizeewo ggwe ne batabani bo.” Lwali lumu, Elisa n'atambula n'agenda e Sunemu. Eyo waaliyo omukazi omugagga, ne yeegayirira Elisa okulya ku mmere mu maka ge. Era okuva olwo, Elisa buli lwe yakwatanga ekkubo eryo, yagendanga n'alya ku mmere mu maka ago. Omukazi oyo n'agamba bba nti: “Kaakati ntegedde ng'omusajja ono atera okujja wano muntu wa Katonda. Tumuzimbire nno akasenge mu kalina, tumuteeremu ekitanda, n'entebe n'ettaala, bw'anajjanga gye tuli asulenga omwo.” Lwali lumu Elisa n'ajja e Sunemu, n'ayingira mu kasenge ako, n'agalamirako omwo. N'agamba Gehazi omuweereza we nti: “Yita Omusunammu oyo.” Gehazi n'amuyita. Omukazi n'ajja, n'ayimirira mu maaso ga Gehazi. Elisa n'agamba Gehazi nti: “Mugambe nti: ‘Otutawaanidde nnyo n'otulabirira okwenkana awo. Olina ky'oyagala naffe tukukolere? Oyagala tubeeko ekirungi kye tukwogerera ewa Kabaka oba ew'omukulu w'eggye?’ ” Omukazi n'addamu nti: “Siriiko kye njula, kubanga ndi wano mu bantu bange.” Elisa n'abuuza Gehazi nti: “Kale kiki kye mba mmukolera?” Gehazi n'addamu nti: “Mukaziwattu wuuno talina mwana, ate ne bba mukadde.” Elisa n'agamba nti: “Muyite ajje wano.” Gehazi n'amuyita. Omukazi bwe yajja, n'ayimirira ku mulyango. Elisa n'amugamba nti: “Mu kiseera nga kino omwaka ogujja, oliba olera omwana owuwo ow'obulenzi.” Omukazi n'addamu nti: “Nedda mukama wange, oli musajja wa Katonda, tonguyaaguya nze omuweereza wo.” Omukazi n'aba olubuto, era mu kiseera ng'ekyo omwaka ogwaddirira, n'azaala omwana ow'obulenzi, nga Elisa bwe yamugamba. Lwali lumu omwana oyo ng'akuzeemu, n'agenda okusanga kitaawe mu nnimiro gye yali awamu n'abakunguzi. N'akaabirira kitaawe nti: “Omutwe gunzita, omutwe gunzita!” Kitaawe n'agamba omuweereza nti: “Musitule omutwale ewa nnyina.” Omuweereza n'amusitula n'amutwala ewa nnyina. Nnyina n'amulera. Bwe bwatuuka mu ttuntu, omwana n'afa. Nnyina n'amwambusa, n'amugalamiza ku kitanda ky'omusajja wa Katonda, n'amuggaliramu, n'afuluma. N'ayita bba, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mpeereza omu ku bavubuka, n'emu ku ndogoyi, ŋŋende bunnambiro ew'omusajja wa Katonda, nkomewo mangu.” Bba n'amubuuza nti: “Kiki ekikwagaza okugenda gy'ali olwaleero nga si lunaku lukulu lwa kuboneka kwa mwezi, wadde olwa Sabbaato?” Omukazi n'addamu nti: “Tofaayo, naye ndeka ŋŋende.” Omukazi n'atandiika endogoyi, n'agamba omuvubuka nti: “Goba endogoyi eyanguwe. Totta ku bigere okuggyako nga nze nkugambye.” Bw'atyo n'agenda n'atuuka ew'omusajja wa Katonda ku Lusozi Karumeeli. Omusajja wa Katonda bwe yalengera omukazi oyo ng'akyali wala, n'agamba Gehazi omuweereza we nti: “Laba, omukazi Omusunammu wuuyo! Dduka mbiro, omusisinkane, omubuuze nti: ‘Oli bulungi? Ne balo ali bulungi? N'omwana ali bulungi?’ ” Omukazi n'addamu nti: “Bulungi.” Kyokka bwe yatuuka ku lusozi omusajja wa Katonda w'ali, n'amukwata ku bigere. Gehazi n'asembera okumusikawo, naye omusajja wa Katonda n'agamba nti: “Muleke, kubanga omutima gwe munakuwavu. Ate Mukama akinkisizza n'atambuulira.” Omukazi n'agamba nti: “Nze nakusaba omwana ow'obulenzi? Saakugamba nti tonguyaaguya?” Elisa n'agamba Gehazi nti: “Yanguwa mangu okwate omuggo gwange, ogende. Bw'osanga omuntu mu kkubo, tomulamusa. Era bwe wabaawo akulamusa, tomuddamu. Bw'onootuuka, omuggo gwange oguteeke ku mwana.” Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako.” Elisa n'asituka, n'agenda naye. Gehazi n'agenda n'abasookayo, n'ateeka omuggo ku mwana, naye ne wataba kanyego, wadde akakuba. N'addayo okusisinkana Elisa, n'amutegeeza nti: “Omwana tazuukuse.” Elisa bwe yayingira mu kisenge kye, n'alaba omwana ng'afudde era ng'agalamiziddwa ku kitanda kye. Ne yeggaliramu yekka n'omwana, ne yeegayirira Mukama. N'agenda ku kitanda, n'agalamira ku mwana, n'ateeka akamwa ke ku kamwa k'omwana, n'amaaso ge ku maaso g'omwana, n'ebibatu bye ku bibatu by'omwana, ne yeegololera ku ye, omubiri gw'omwana ne gubuguma. Elisa n'asooka asitukawo, n'atambulatambula mu kisenge, n'addayo ne yeegololera ku mwana. Omwana n'ayasimula emirundi musanvu, n'azibula amaaso. Elisa n'ayita Gehazi n'amugamba nti: “Yita Omusunammu oyo.” Gehazi n'amuyita. Omukazi bwe yayingira, Elisa n'amugamba nti: “Omwana wo wuuyo.” Omukazi n'ajja n'avuunama kumpi n'ebigere bya Elisa, n'akutama wansi, n'asitulawo omwana we, n'afuluma. Awo Elisa n'akomawo e Gilugaali ng'enjala ebunye ensi. Ab'ekibiina ky'abalanzi bwe baali batudde mu maaso ge, n'agamba omuweereza we nti: “Teekako entamu ennene obafumbire ebyokulya.” Omu n'ava awo n'agenda ku ttale okunogayo emiboga. N'asanga ekiryo eky'omu nsiko, n'anogako ebibala ebiri ng'emiboga, n'ajjuza ekikondoolo, n'ajja n'abisalaasalira mu ntamu erimu ebyokulya, nga tebabimanyi. Ne bajjulira abantu okulya. Naye olwalyako, ne baleekaana nti: “Ayi omusajja wa Katonda, mu ntamu mulimu obutwa!” Ne batayongera kulya. Elisa n'agamba nti: “Muleeteeyo ku buwunga!” N'abuyiwa mu ntamu. N'agamba nti: “Mubajjulire balye!” Ebyokulya ne birongooka. Lwali lumu ne wajjawo omusajja eyava e Baali Saaliisa, ng'atadde mu nsawo ye ebirimba by'eŋŋaano ebyengevu n'emigaati amakumi abiri egya bbaale eyasookera ddala mu makungula ge, n'abireetera omusajja wa Katonda. Elisa n'agamba omuweereza we nti: “Biwe abantu balye.” Omuweereza we n'agamba nti: “Nkole ntya! Buno bwokka bwe mba mpa abantu ekikumi.” Elisa n'addamu nti: “Abantu bawe balye, kubanga Mukama agamba nti: ‘Bajja kulya balemerwenawo!’ ” Omuweereza n'ateeka ebyokulya ebyo mu maaso gaabwe, ne balya ne balemerwawo, nga Mukama bwe yagamba. Naamani, Omuduumizi w'eggye lya kabaka wa Siriya yali muntu waakitiibwa era asiimibwa ennyo mukama we, kubanga olwa Naamani oyo, Mukama yali awadde Siriya obuwanguzi. Naamani yali musajja wa maanyi omuzira, kyokka yali mugenge. Abasiriya mu bikwekweto byabwe baali banyaze mu nsi ya Yisirayeli omuwala omuto, n'afuuka omuweereza wa muka Naamani. Lumu omuwala oyo n'agamba mugole we nti: “Singa mukama wange agendako ew'omulanzi ali e Samariya, omulanzi oyo yandimuwonyezza ebigenge bye!” Naamani n'agenda n'ategeeza mukama we nti: “Omuwala eyaggyibwa mu nsi ya Yisirayeli agambye bw'ati ne bw'ati.” Kabaka wa Siriya n'agamba nti: “Kale genda. Nja kuwandiikira kabaka wa Yisirayeli ebbaluwa ogimutwalire.” Awo Naamani n'agenda ng'atutte talanta kkumi eza ffeeza, n'ebitundu kakaaga ebya zaabu, n'emigogo kkumi egy'ebyambalo. N'aleetera kabaka wa Yisirayeli ebbaluwa ng'esoma bw'eti: “Ebbaluwa eno ng'ekutuuseeko, ya kukwanjulira mukungu wange Naamani gwe nkuweerezza omuwonye ebigenge bye.” Kabaka wa Yisirayeli bwe yasoma ebbaluwa eyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'agamba nti: “Nze ndi Katonda? Nnina obuyinza okutta n'okugaba obulamu? Omusajja ono ayinza atya okuntumira okuwonya omuntu ebigenge bye! Mufumiitirize mulabe bw'anoonya ky'anasinziirako okuyomba nange!” Elisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Yisirayeli ayuzizza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'amutumira ng'agamba nti: “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo olw'okusoberwa? Leka ajje gye ndi, kale anaamanya nga mu Yisirayeli mulimu omulanzi.” Awo Naamani n'ajja n'embalaasi ze, n'amagaali ge, n'asibira ku mulyango gw'ennyumba ya Elisa. Elisa n'amutumira omubaka okumugamba nti: “Genda onaabe emirundi musanvu mu Mugga Yorudaani, ojja kuwona obe mulongoofu.” Kyokka Naamani n'asunguwala, n'agenda ng'agamba nti: “Kale laba! Mbadde ndowooza ng'anaavaayo n'ayimirira we ndi, ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayisaayisa engalo ze awali ebigenge, n'amponya! Emigga Abana ne Farupari egy'e Damasiko tegiriimu mazzi agasinga amazzi ga Yisirayeli gonna obulungi? Siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu?” N'akyuka, n'agenda ng'aliko n'obuswandi. Abaweereza be ne bamusemberera ne bamugamba nti: “Ssebo, singa omulanzi akugambye okukola ekintu ekinene, tewandikikoze? Kale tosinga nnyo okwanguyirwa nga bw'akugambye nti: ‘Naaba obe mulonguufu?’ ” Awo Naamani n'aserengeta, ne yennyika mu Mugga Yorudaani emirundi musanvu, ng'omusajja wa Katonda bwe yamugamba, n'awonera ddala, omubiri gwe ne guba ng'ogw'omwana omuto. N'addayo ew'omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ayimirira mu maaso ge, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda wa Yisirayeli ye Katonda w'ensi zonna, teri mulala. Kale nkwegayiridde okkirize nkuwe ekirabo, nze omuweereza wo kye nkuleetedde.” Elisa n'agamba nti: “Mu mazima, nga Mukama gwe mpeereza bw'ali omulamu, sijja kubaako kintu na kimu kye ntwala.” N'amwegayirira nnyo okukitwala, kyokka ye n'agaana. Awo Naamani n'agamba nti: “Oba okigaanyi, nkwegayiridde ompe ettaka eriyinza okwetikkibwa ennyumbu ebbiri, nditwale ewaffe, kubanga okuva kati, nze omuweereza wo, siiwengayo ebiweebwayo ebyokebwa, wadde ebitambiro eri lubaale n'omu, wabula eri Mukama. Naye mu kino, Mukama ansonyiwenga nze omuweereza wo, bwe nnaawerekeranga mukama wange kabaka wa Siriya, okugenda mu ssabo lya Rimmoni lubaale wa Siriya, okusinzizaayo. Bwe nnaavuunamanga mu ssabo lya Rimmoni, Mukama ansonyiwenga mu ekyo.” Elisa n'amugamba nti: “Genda mirembe.” Ne baawukana, Naamani n'agenda. Yali yaakatambulako katono, Gehazi omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda, n'agamba nti: “Laba mukama wange bw'alese Naamani ono Omussiriya okugenda n'atamuggyako ebyo bye yaleeta! Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, nja kudduka, mmugoberere, mbeeko kye mmuggyako.” Gehazi n'adduka ng'amugoberera, n'ava mu ggaali okumusisinkana. N'amubuuza nti: “Eriyo omutawaana?” Gehazi n'addamu nti: “Teri mutawaana, naye mukama wange antumye okukugamba nti: ‘Mu kaseera kano abavubuka babiri ku b'ekibiina ky'abalanzi, kye bajje bantuukeko nga bava mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Nkusaba obawe talanta emu eya ffeeza, n'emigogo ebiri egy'ebyambalo.’ ” Naamani n'agamba nti: “Kkiriza otwale talanta bbiri.” N'amwegayirira nnyo, n'asiba talanta ezo ebbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, wamu n'emigogo ebiri egy'ebyambalo, n'abikwasa abaweereza be babiri, ne babitwala nga bakulembeddemu Gehazi. Bwe baatuuka ku lusozi Elisa kwe yali, Gehazi n'abibaggyako, n'abitereka mu nnyumba. N'agamba abaweereza ba Naamani ne baddayo. N'ayingira mu nnyumba n'ayimirira mu maaso ga Elisa mukama we. Elisa n'amubuuza nti: “Ova wa Gehazi?” Gehazi n'addamu nti: “Nze omuweereza wo, sinnabaako we ndaga.” Kyokka Elisa n'amugamba nti: “Sibadde naawe mu mwoyo, omusajja bw'avudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino kye kiseera okwefunira ensimbi n'ebyambalo, n'ennimiro z'emizayiti n'ez'emizabbibu, n'endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana? Kale nno ebigenge bya Naamani binaakukwata ggwe, era binaabanga n'ab'ezzadde lyo emirembe gyonna.” Gehazi n'ava awali Elisa nga Gehazi mugenge, atukula ng'omuzira. Lwali lumu ab'ekibiina ky'abalanzi abaabeeranga ne Elisa, ne bamugamba nti: “Naawe ssebo nga bw'olaba, ekifo kye tubeeramu naawe, kifunda nnyo. Tukwegayiridde, tukkirize tugende ku Mugga Yorudaani tutemeyo omuti gumu buli muntu, twezimbirewo ekifo eky'okubeeramu.” N'addamu nti: “Kale mugende.” Omu ku bo n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, kkiriza ogende naffe abaweereza bo.” Elisa n'addamu nti: “Kale tugende.” N'agenda wamu nabo. Bwe baatuuka ku Mugga Yorudaani, ne batema emiti. Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'ewanguka n'egwa mu mazzi. N'aleekaana ng'agamba nti: “Zinsanze nze, mukama wange! Embazzi ebadde neeyazike!” Omusajja wa Katonda n'abuuza nti: “Egudde wa?” Oli n'amulaga ekifo w'egudde. Elisa n'atema ekiti, n'akisuula mu mazzi, n'abbulukusa embazzi eyawanguse. N'agamba nti: “Giggyeeyo ggwe wennyini.” Oli n'agolola omukono n'agiggyayo. Awo kabaka wa Siriya n'aggula olutalo ku Yisirayeli. N'ateesa n'abakungu be, n'alonda ekifo gy'anaakuba olusiisira lwe. Kyokka Elisa omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Yisirayeli ng'agamba nti: “Weekuume, oleme okuyita mu kifo bwe kiti, kubanga eyo Abasiriya basiisiddeyo.” Kabaka wa Yisirayeli n'atuma abantu mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yali amubuuliddeko ng'amulabula. Emirundi egiwera, kabaka n'awona okutuukibwako akabi mu kifo ekyo. Ekyo ne kireetera kabaka wa Siriya okusoberwa ennyo. N'ayita abakungu be, n'ababuuza nti: “Ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Yisirayeli?” Omu ku bakungu be n'addamu nti: “Tewali n'omu, ayi mukama wange Ssaabasajja, wabula Elisa, omulanzi ali mu Yisirayeli, ye abuulira kabaka wa Yisirayeli ne by'oyogerera mu kisenge kyo ky'osulamu.” Kabaka wa Siriya n'agamba nti: “Mugende muzuule gy'ali, ntume bamukwate bamuleete.” Bwe baamubuulira nti Elisa ali Dotani, n'asindikayo eggye ddene n'embalaasi n'amagaali. Ne lijja kiro, ne lizingiza ekibuga. Omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda bwe yazuukuka enkeera ku makya n'afuluma, n'alaba ab'eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. N'ayanguwa n'agamba mukama we nti: “Zitusanze, ayi mukama wange! Tunaakola tutya?” Elisa n'addamu nti: “Totya! Kubanga abali ku ludda lwaffe, bangi okusinga abali ku ludda lwabwe.” Awo Elisa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, zibula amaaso ge alabe!” Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi oyo. Bwe yatunula n'alaba olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali agaaka omuliro, nga geetoolodde Elisa. Abasiriya bwe bajja okulumba Elisa, Elisa n'asaba Mukama nti: “Ayi Mukama nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano.” Mukama n'aziba amaaso gaabwe, nga Elisa bwe yasaba. Elisa n'agenda gye bali n'abagamba nti: “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga kye mujjiridde. Mungoberere, nze nja kubatuusa ku muntu gwe munoonya.” N'abatwala e Samariya. Bwe baatuuka mu Samariya, Elisa n'asaba Mukama nti: “Ayi Mukama, nkusaba ozibule amaaso gaabwe.” Bwe baatunula ne balaba nga bali mu Samariya wakati. Kabaka wa Yisirayeli bwe yalaba Abasiriya abo, n'abuuza Elisa nti: “Ssebo, mbatte? Mbatte?” Elisa n'addamu nti: “Nedda, tobatta, oyagala okubatta, obawambye mu lutalo? Bawe emmere n'amazzi, balye era banywe, obaleke baddeyo ewa mukama waabwe.” Kabaka wa Yisirayeli n'abakolera embaga nnene. Bwe baamala okulya n'okunywa, kabaka n'abasiibula ne baddayo ewa mukama waabwe. Okuva olwo, ebibinja bya Siriya ne bikoma okujjanga mu nsi ya Yisirayeli. Ebyo bwe byaggwa, Benihadadi kabaka wa Siriya n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n'agenda n'azingiza Ekibuga Samariya. Olw'okuzingiza okwo, ne waba enjala nnyingi mu kibuga, omutwe gw'endogoyi ne gutuuka okugula sekeli kinaana, n'ekimu ekyokuna ekya kilo ya kalimbwe w'enjiibwa ne kigula sekeli ttaano. Kabaka wa Yisirayeli bwe yali ng'ayita ku kisenge ky'ekibuga, omukazi omu n'amukaabirira ng'agamba nti: “Nnyamba, ayi Ssaabasajja.” Kabaka n'addamu nti: “Mukama bw'anaaba takuyambye, nze naggya wa eby'okukuyamba nga nange mu gguuliro sirinaamu kaakulya, wadde mu ssogolero, akookunywa?” Kabaka n'amubuuza nti: “Obadde ki?” Omukazi n'addamu nti: “Mukazi munnange ono yaŋŋamba nti: ‘Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye olwaleero, olwenkya tulyoke tulye owange!’ Ne tufumba omwana owange, ne tumulya. Ku lunaku olwaddako ne mmugamba nti: ‘Waayo omwana wo tumulye,’ kyokka omwana owuwe amukwese!” Kabaka bwe yawulira ebigambo omukazi oyo bye yayogera, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala. Abantu abaali awo ku kisenge ky'ekibuga we yali ayita ne balaba ng'ayambadde ekikutiya ku mubiri gwe olw'okwebonereza. N'agamba nti: “Katonda ambonereze n'obukambwe, Elisa mutabani wa Saafati bw'ataatemweko mutwe olwaleero!” Kabaka n'atumira Elisa omubaka. Mu kiseera ekyo Elisa yali wuwe eka n'abamu ku bantu abakulu abaali bazze okumulaba. Omubaka wa Kabaka yali tannatuuka, Elisa n'agamba abakulu abo nti: “Mulabye omutemu ono bw'atumye bantemeko omutwe? Kale omubaka we bw'anajja, muggalewo oluggi mulunyweze aleme kuyingira.” Ne kabaka yennyini anajja ng'amuvaako emabega. Yali ng'akyayogera nabo, omubaka n'atuuka w'ali n'agamba nti: “Mukama ye atutuusizzaako akabi kano. Kale lwaki nnyongera okulindirira Mukama ky'anaakola?” Elisa n'agamba nti: “Muwulire Mukama ky'agamba. Mukama agamba nti: ‘Enkya mu budde nga buno, ekibbo ekimu eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi kijja kugula sekeli emu, n'ebibbo bibiri ebya bbaale nabyo bijja kugula sekeli emu.’ ” Omukungu wa Kabaka amubeera ku lusegere n'addamu omusajja wa Katonda nti: “Kale Mukama ne bwe yanditonnyesezza enkuba amangwago, ekyo ekyenkanidde awo kisobola okubaawo?” Elisa n'addamu nti: “Ojja kukirabira ddala n'amaaso go nga kibaawo, naye ebyo tojja kubiryako.” Ebweru wa wankaaki w'Ekibuga Samariya waaliwo abasajja abagenge bana. Ne bagambagana nti: “Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tunaafa? Bwe tugamba nti: ‘Tuyingire mu kibuga,’ ekibuga kirimu enjala, ejja kututtirayo. Bwe tusigala wano, era tujja kufa. N'olwekyo mujje tugende mu lusiisira lw'Abasiriya. Bwe banaatuleka nga tuli balamu, olwo tunaaba balamu. Bwe banaatutta, kale tunaafa.” Bwe batyo ne basituka ng'obudde tebunnalaba, okugenda mu lusiisira lw'Abasiriya. Naye bwe baalutuukako, ne batasangayo muntu n'omu. Mukama yali aleetedde Abassiriya okuwulira amaloboozi agali ng'ag'eggye eddene erijja n'embalaasi n'amagaali. Ne bagambagana nti: “Abange, kabaka wa Yisirayeli apangisizza bakabaka b'Abahiiti, n'ab'Abamisiri okujja okutulwanyisa!” Kale ne basituka ne badduka okuwonya obulamu bwabwe, ne baleka awo ttayo eweema zaabwe n'embalaasi zaabwe, n'endogoyi zaabwe, n'olusiisira lwonna nga bwe lwali. Abagenge bwe baatuuka olusiisira we lutandikira, ne bayingira mu weema emu, ne balya ne banywa, ne baggyamu ffeeza ne zaabu n'ebyambalo ne bagenda ne babikweka. Ne bakomawo ne bayingira mu weema endala, ne baggyamu ebyalimu, nabyo ne bagenda ne babikweka. Awo ne bagambagana nti: “Kye tukola si kituufu. Olwaleero lunaku lwa mawulire malungi, naye ffe tusirise nago. Bwe tunaalinda okutuusa obudde okukya tulyoke tugasaasaanye, tujja kubonerezebwa. N'olwekyo mujje tugende tubuulire abakungu ba Kabaka.” Awo ne bagenda ne bakoowoola abaggazi b'ekibuga, ne babategeeza nti: “Tuyingidde mu lusiisira lw'Abasiriya, ne tutasangayo wadde okuwulirayo omuntu n'omu, naye waliyo mbalaasi na ndogoyi ezisibiddwa, n'eweema ezirekeddwa nga bwe zaabadde.” Abaggazi ne balangirira amawulire ago, ne bagatuusa mu lubiri lwa kabaka munda. Obudde bwali bukyali kiro, kabaka n'agolokoka, n'agamba abakungu be nti: “Ka mbabuulire Abassiriya kye baategese. Bamanyi ng'enjala etuli bubi. N'olwekyo baavudde mu lusiisira lwabwe okwekweka mu ttale nga bagamba nti: ‘Abayisirayeli bwe banaava mu kibuga, tunaabawamba nga balamu ne tuyingira ekibuga.’ ” Omu ku bakungu be n'agamba nti: “Nkwegayiridde wabeewo abagendayo ku mbalaasi ttaano ku ezo ezisigaddewo mu kibuga. Bwe banaalama, banaaba kimu n'Abayisirayeli abalala bonna abasigadde mu kibuga. Bwe banaafiirayo, banaaba kimu n'Abayisirayeli abalala bonna abafudde. N'olwekyo tutumeyo tulabe.” Ne baleeta amagaali abiri agasikibwa embalaasi, kabaka n'atuma abantu okulondoola eggye ly'Abassiriya, n'agamba nti: “Mugende mulabe ekiriyo.” Ababaka ne bagenda okutuukira ddala ku Yorudaani, wonna mu kkubo ne basanga ebyambalo n'ebintu ebirala Abasiriya bye basudde nga badduka. Ne bakomawo ne babuulira Kabaka. Abantu b'omu Samariya ne bagenda ne banyaga olusiisira lw'Abassiriya. Ekibbo ky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi ne kigula sekeli emu, n'ebibbo bibiri ebya bbaale ne bigula sekeli emu nga Mukama bwe yagamba. Kabaka yali alonze omukungu we eyamubeeranga ku lusegere, ng'amutaddewo okulabirira wankaaki w'ekibuga. Abantu ne balinnyirira omukungu oyo ng'ali mu mulyango, n'afa, ng'omusajja wa Katonda bwe yalanga nga kabaka agenze gy'ali okumulaba. Omusajja wa Katonda kye yagamba kabaka ne kituukirira nti: “Enkya mu budde nga buno, ku mulyango oguyingira mu Samariya, ebibbo bibiri ebya bbaale binaagula sekeli emu, n'ekibbo kimu eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi kinaagula sekeli emu.” Omukungu n'addamu omusajja wa Katonda nti: “Mukama ne bwe yanditonnyesezza enkuba amangwago, ekyo ekyenkana awo kisobola okubaawo?” Elisa n'addamu nti: “Ojja kukirabira ddala n'amaaso go nga kibaawo, naye ebyo tojja kubiryako.” Ekyo ne kituukirira ku ye, kubanga abantu baamulinnyirira ng'ali mu mulyango, n'afa. Elisa yali agambye omukazi Omusunammu gwe yazuukiriza omwana we nti: “Situka ogende, ggwe n'ab'omu maka go, obeeko awalala gy'oyinza okugira ng'okyabeera, kubanga Mukama asindise enjala ebe ku nsi, okumala emyaka musanvu.” Omukazi n'asituka, n'akola ng'omusajja wa Katonda bwe yamugamba. N'agenda n'ab'omu maka ge bonna, n'abeera mu nsi y'Abafilistiya okumala emyaka musanvu. Emyaka egyo omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'ava mu nsi y'Abafilistiya, n'akomawo mu Yisirayeli. N'agenda eri kabaka okusaba okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Yasanga kabaka ayogera ne Gehazi omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda, ng'agamba nti: “Nkwegayiridde, mbuulira byonna ebikulu Elisa bye yakola.” Gehazi bwe yali abuulira kabaka nga Elisa bwe yazuukiza omuntu eyali afudde, omukazi oli Elisa gwe yazuukiriza omwana we n'atuuka mu kaseera ako, n'akaabirira kabaka ng'amwegayirira okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Gehazi n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, omukazi ye ono, era ono ye mwana we, Elisa gwe yazuukiza!” Kabaka n'abuuza omukazi bwe byali, omukazi n'amubuulira byonna. Kabaka n'amuteekako omukungu gwe yalagira nti: “Omukazi ono muddize byonna ebyali ebibye, n'omuwendo ogugya mu bibala byonna ebyava mu kibanja kye, ebbanga lyonna lye yamala nga taliiwo.” Awo Elisa n'ajja e Damasiko nga Benihadadi Kabaka w'e Siriya alwadde. Ne babuulira Benihadadi nti: “Omusajja wa Katonda azze kuno.” Kabaka n'agamba Hazayeeli nti: “Twala ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, oyite mu ye weebuuze ku Mukama oba nga nnaawona obulwadde buno.” Awo Hazayeeli n'agenda okusisinkana Elisa, ng'atutte ku bintu byonna ebirungi eby'omu Damasiko, ekirabo ekyetikkiddwa eŋŋamiya amakumi ana. Bwe yatuuka awali Elisa, ne yeeyanjula ng'agamba nti: “Omwana wo Benihadadi, kabaka wa Siriya antumye gy'oli ng'abuuza oba ng'anaawona obulwadde obumuluma.” Elisa n'amuddamu nti: “Genda omugambe nti ddala ajja kuwona obulwadde obumuluma, kyokka Mukama andaze nti ddala ajja kufa.” Awo Elisa n'atunuulira Hazayeeli enkaliriza, okutuusa Hazayeeli ensonyi lwe zaamukwata. Elisa omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga. Hazayeeli n'amubuuza nti: “Mukama wange, okaabira ki amaziga?” Elisa n'addamu nti: “Kubanga mmanyi eby'akabi by'olikola Abayisirayeli. Ebigo byabwe ebigumu olibyokya omuliro, olitta abavubuka baabwe mu lutalo, era olibaaga bakazi baabwe abali embuto.” Hazayeeli n'abuuza nti: “Omuweereza wo ataliiko bwe ndi, ndikola ntya ebyo ebyenkanidde awo?” Elisa n'addamu nti: “Mukama andaze nti oliba kabaka wa Siriya.” Awo Hazayeeli n'ava awali Elisa, n'addayo eri Benihadadi mukama we. Benihadadi n'amubuuza nti: “Elisa akugambye ki?” Hazayeeli n'addamu nti: “Aŋŋambye nti ddala ojja kussuuka.” Kyokka enkeera Hazayeeli n'addira bulangiti n'aginnyika mu mazzi, n'agimuzibikiza ennyindo n'omumwa, kabaka n'afa ekiziyiro. Hazayeeli n'afuuka kabaka mu kifo kye. Mu mwaka ogwokutaano nga Yoraamu mutabani wa Ahabu ye kabaka wa Yisirayeli, ne Yehosafaati nga ye kabaka wa Buyudaaya, mu kiseera ekyo, Yehoraamu mutabani wa Yehosafaati oyo, n'afuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi asatu mu ebiri, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemu. Yawasa muwala wa Ahabu, era ng'ab'ennyumba ya Ahabu bwe baakola, n'agoberera empisa embi eza bakabaka ba Yisirayeli ng'akola ebibi, n'anyiiza Mukama. Kyokka Mukama n'atayagala kuzikiriza Buyudaaya, kubanga yasuubiza omuweereza we Dawudi ng'ab'ezzadde lye banaafuganga obwakabaka obwo emirembe gyonna. Ku mulembe gwa Yehoraamu, Abeedomu ne bajeemera Buyudaaya, ne beeteerawo obwakabaka obwabwe. Yehoraamu n'agenda e Zayiri n'amagaali ge gonna. Eggye ly'Abeedomu ne limuzingiza. Ekiro, ye n'abaduumizi b'amagaali ge ne basobola okuwaguza, abaserikale be ne badduka, buli omu n'adda gy'abeera. Edomu n'ejeemera Buyudaaya n'okutuusa kati. Era mu kiseera ekyo, n'ekibuga Libuna ne kijeema. N'ebirala byonna Yehoraamu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Yehoraamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi, mutabani we Ahaaziya n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga Yoraamu mutabani wa Ahabu ye kabaka wa Yisirayeli, Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu n'afuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Ataliya muwala wa Ahabu era muzzukulu wa Kabaka Omuri owa Yisirayeli. Ahaaziya nga bwe yali omujjwa mu nnyumba ya Ahabu, yagoberera empisa embi ez'ab'ennyumba eyo, n'akola ebibi nga bo bye baakolanga, n'anyiiza Mukama. Kabaka Ahaaziya n'agenda ne Kabaka Yoraamu owa Yisirayeli mu lutalo okulwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya, olutalo ne lukwajjira e Ramoti Gileyaadi. Abassiriya ne bafumita Yoraamu ebiwundu. Awo Kabaka Yoraamu n'akomawo e Yezireeli amale okussuuka ebiwundu Abassiriya bye baamufumitira e Raama ng'alwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya. Kabaka Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu kabaka wa Buyudaaya n'agendayo okumulaba obulwadde. Awo Elisa omulanzi n'ayita omu ku b'ekibiina ky'abalanzi, n'amugamba nti: “Weeteeketeeke, okwate eccupa eno ey'omuzigo, ogende e Ramoti Gileyaadi. Bw'onootuukayo, onoonye Yeehu mutabani wa Yehosafaati era muzzukulu wa Nimusi. Oyingire mu nnyumba mw'ali, omuggye mu banne, omutwale mu kisenge ekyomunda. Okwate eccupa y'omuzigo, ogumufuke ku mutwe, ogambe nti Mukama agamba nti: ‘Nkufuseeko omuzigo obe kabaka wa Yisirayeli.’ ” Olwo olyoke oggulewo oluggi odduke, oveeyo mangu. Awo omuvubuka omulanzi n'agenda e Ramoti Gileyaadi, n'asangayo abakulu mu ggye nga batudde. N'agamba nti: “Ssebo, ndiko kye ntumiddwa gy'oli.” Yeehu, n'abuuza nti: “Ogamba ani ku ffe ffenna?” N'addamu nti: “Ggwe ssebo.” Yeehu n'asituka, bombi ne bayingira mu kisenge. Omuvubuka omulanzi n'afuka omuzigo ku mutwe gwa Yeehu, n'amugamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nkufuseeko omuzigo obe kabaka w'abantu bange Abayisirayeli. Era olitta ab'ennyumba ya Ahabu mukama wo, mpoolere eggwanga olw'abaweereza bange abalanzi, n'olw'abaweereza bange abalala, Yezebeeli be yatta. Ab'ennyumba ya Ahabu bonna ba kuzikirira. Ndimalirawo ddala mu Yisirayeli buli mwana ow'obulenzi omuto n'omukulu asibuka mu Ahabu. Ab'ennyumba ya Ahabu ndibafuula ng'ab'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, era ng'ab'ennyumba ya Baasa, mutabani wa Ahiya. Tewaliba aziika Yezebeeli, wabula omulambo gwe embwa ziriguliira mu bitundu by'e Yezireeli.’ ” Omuvubuka omulanzi bwe yamala okwogera ebyo, n'aggulawo oluggi n'afuluma n'adduka. Awo Yeehu n'afuluma n'addayo mu bakungu banne. Omu ku bo n'amubuuza nti: “Bye mubaddeko bya mirembe? Olusajja olwo olulalulalu lubadde lukwagaza ki?” N'abagamba nti: “Nammwe omusajja oyo mumumanyi n'ebigambo bye.” Ne bagamba nti: “Olimba. Tubuulire kaakano.” N'agamba nti: “Aŋŋambye bw'ati ne bw'ati nti Mukama agamba nti: ‘Nkufuseeko omuzigo obe kabaka wa Yisirayeli.’ ” Amangwago buli omu n'ayambulamu omunagiro gwe ne bagyaliira ku madaala Yeehu alinnyeko. Ne bafuuwa ekkondeere, ne bagamba nti: “Yeehu ye kabaka!” Awo Yeehu mutabani wa Yehosafaati era muzzukulu wa Nimusi n'akola olukwe okutta Yoraamu. Mu kiseera ekyo, Yoraamu n'Abayisirayeli bonna baali bakuuma Ramoti Gileyaadi kireme kuwambibwa Hazayeeli, kabaka wa Siriya. Kyokka Kabaka Yoraamu yali azzeeyo e Yezireeli amale okussuuka ebiwundu, Abassiriya bye baamufumita ng'alwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya. Awo Yeehu n'agamba bakungu banne nti: “Oba nga muli ku ludda lwange, temukkiriza muntu n'omu kuseguka n'abomba mu kibuga agende mu bubba okumanyisa ab'e Yezireeli.” Awo Yeehu n'alinnya mu ggaali lye, n'agenda e Yezireeli, kubanga Yoraamu gye yali alwalidde, ne Ahaaziya kabaka wa Buyudaaya yali agenzeeyo okumulaba obulwadde. Awo omukuumi yali ayimiridde ku munaala mu Yezireeli, n'alengera Yeehu n'ekibinja kye nga bajja. N'agamba nti: “Ndaba ekibinja ky'abantu ekijja.” Yehoraamu n'agamba nti: “Funayo omuntu omutume agendere ku mbalaasi okubasisinkana, abuuze nti: ‘Muzze lwa mirembe?’ ” Eyeebagadde embalaasi n'agenda okusisinkana Yeehu. N'amugamba nti: “Kabaka abuuza nti: ‘Ozze lwa mirembe?’ ” Ye n'addamu nti: “Emirembe ogifaako ki? Yitawo, odde emabega wange, ongoberere!” Omukuumi n'azzaayo obubaka ng'agamba nti: “Omubaka abatuuseeko, kyokka tadda.” N'atuma omulala eyeebagadde embalaasi, n'abatuukako, n'agamba nti: “Kabaka abuuza nti: ‘Muzze lwa mirembe?’ ” Yeehu n'addamu nti: “Emirembe ogifaako ki? Yitawo, odde emabega wange, ongoberere!” Omukuumi era n'azzaayo obubaka ng'agamba nti: “Omubaka abatuuseeko, kyokka tadda! N'envuga y'eggaali eri ng'eya Yeehu muzzukulu wa Nimusi, kubanga Yeehu avuga kiralu!” Yehoraamu n'agamba nti: “Muteeketeeke eggaali lyange.” Ne baliteekateeka. Awo Yehoraamu kabaka wa Yisirayeli ne Ahaaziya, kabaka wa Buyudaaya, ne bafuluma nga buli omu ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeehu, ne bamusanga mu nnimiro eyali eya Naboti Omuyezireeli. Awo Yehoraamu bwe yalaba Yeehu, n'amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe, Yeehu?” Yeehu n'addamu nti: “Mirembe ki, ng'okusinza ebitali Katonda n'obulogo ebya nnyoko Yezebeeli bikyali bingi okwenkana awo?” Yehoraamu n'akyusa eggaali lye, n'adduka nga bw'agamba Ahaaziya nti: “Waliwo olukwe, munnange Ahaaziya!” Yeehu n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna, n'alasa Yehoraamu akasaale mu mugongo wakati, ne kamuyita mu mutima, n'agwa mu ggaali lye. Yeehu n'agamba Bidikaari omukungu we nti: “Musitule, omusuule mu nnimiro y'omugabo gwa Naboti Omuyezireeli, kubanga jjukira, nze naawe bwe twali twebagadde embalaasi nga ffembi tugoberera Ahabu kitaawe, Mukama bwe yayogera ebigambo bino ebikolimira Ahabu nti: ‘Jjo nalaba Naboti ne batabani be nga batemuddwa. Kale ndikubonereza mu nnimiro eno.’ N'olwekyo musitule, omusuule mu nnimiro eyo, okutuukiriza ekyo Mukama kye yagamba.” Ahaaziya kabaka wa Buyudaaya bwe yalaba ebiguddewo, n'addukira mu ggaali lye, ng'akutte ekkubo erigenda e Beeti-Haggani. Yeehu n'amuwondera, era n'agamba basajja be nti: “N'oyo mumuttire mu ggaali lye.” N'addukira e Megiddo, n'afiira eyo. Abaweereza be ne bamutwalira mu ggaali lye, ne bamuzzaayo e Yerusaalemu, ne bamuziika mu ntaana ye mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Ahaaziya yafuuka kabaka wa Buyudaaya mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga Yoraamu mutabani wa Ahabu ye Kabaka wa Yisirayeli. Awo Yeehu n'atuuka mu Yezireeli. Yezebeeli bwe yamanya ebiguddewo, ne yeetona amaaso ge, n'atereeza enviiri ze, n'atunula mu luguudo ng'asinziira mu ddirisa. Yeehu bwe yali ng'ayingira mu mulyango, Yezebeeli n'amukoowoola nti: “Ggwe Zimuri, eyatta mukama wo, ozze lwa mirembe?” Yeehu n'ayimusa amaaso n'atunula waggulu awali eddirisa, n'agamba nti: “Ani ali ku ludda lwange, ani?” Abalaawe b'omu lubiri babiri oba basatu ne balingiza gy'ali. Yeehu n'abagamba nti: “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, omusaayi gwe ne gumansukira ku kisenge ne ku mbalaasi. Yeehu n'amulinnyirira n'eggaali lye. Yeehu n'ayingira mu lubiri, n'alya, n'anywa, n'agamba nti: “Mulabe nti muziika omukazi oyo eyakolimirwa, kubanga muwala wa kabaka.” Ne bagenda okumuziika, kyokka ne batasangawo kirala ku ye okuggyako ekiwanga, n'ebigere, n'ebibatu by'emikono gye. Bwe baakomawo ne babuulira Yeehu. Yeehu n'agamba nti: “Ekyo Mukama kye yagamba ng'ayita mu muweereza we Eliya Omutisubi nti: ‘Embwa ziririira omulambo gwa Yezebeeli mu nnimiro y'e Yezireeli. Ebisigala bye biriba ng'obusa mu nnimiro eyo, wabulewo ayinza n'okugamba nti ono ye Yezebeeli.’ ” Ahabu yalina batabani be wamu ne bazzukulu be ab'obulenzi nsanvu mu kibuga Samariya. Yeehu n'awandiika ebbaluwa, n'aziweereza mu Samariya, era n'aziwaako abafuzi b'e Yezireeli, abakungu, n'abakuza b'abalangira abasibuka mu Ahabu, ng'agamba nti: “Nga bwe mulina batabani ba mukama wammwe era ne bazzukulu be ab'obulenzi, n'amagaali n'embalaasi n'ebyokulwanyisa, n'ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, ebbaluwa eno olubatuukako bw'eti, mulabe ku batabani n'abazzukulu ba mukama wammwe abo, omu asinga obulungi n'okusaanira, mumufuule kabaka, mulwanirire ab'ennyumba ya mukama wammwe.” Bwe baasoma ebbaluwa eyo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Bakabaka abo ababiri Yehoraamu ne Ahaaziya we bataasoboledde kumwaŋŋanga, ffe tunaasobola tutya?” Awo akulira ab'omu lubiri, n'omukulu w'ekibuga, n'abakungu, n'abakuza, ne batumira Yeehu nga bagamba nti: “Tuli baweereza bo, era tujja kukola byonna by'onootulagira. Tetujja kubaako n'omu gwe tufuula kabaka. Ggwe kola kyonna ky'osiima.” Yeehu n'abawandiikira ebbaluwa endala ng'agamba nti: “Oba nga muli ku ludda lwange, era nga mukkirizza okuba abawulize gye ndi, mutemeko emitwe batabani ba mukama wammwe ne bazzukulu be ab'obulenzi, mugindeetere e Yezireeli enkya mu budde nga buno.” Batabani ba kabaka Ahabu wamu ne bazzukulu be ensanvu baali n'abakulembeze b'omu kibuga abaabalabiriranga. Ebbaluwa ya Yeehu bwe yabatuukako, ne batwala abalangira bonna ensanvu abasibuka mu Ahabu ne babatta, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, ne bagiweereza Yeehu e Yezireeli. Omubaka n'ajja n'ategeeza Yeehu nti: “Baleese emitwe gy'abalangira.” Yeehu n'alagira nti: “Mugituume entuumu bbiri ku wankaaki w'ekibuga, gibeere awo okutuusa enkya.” Enkeera ku makya, n'afuluma n'ayimirira ebweru w'ekibuga, n'agamba abantu bonna abaali awo nti: “Mmwe temuliiko musango. Nze nakola olukwe ne nzita mukama wange. Naye ani yasse bano bonna? Mutegeere nno nga buli kimu Mukama kye yayogera ku b'ennyumba ya Ahabu, tekiireme kutuukirira. Mukama akoze ekyo kye yayogera ng'ayita mu muweereza we Eliya.” Awo Yeehu n'atta n'abalala bonna ab'ennyumba ya Ahabu abaali mu Yezireeli n'abakungu ba Ahabu bonna, mikwano gye enfiirabulago, ne bakabona be yateekawo, n'atalekaawo n'omu nga mulamu. Awo Yeehu n'ava e Yezireeli okugenda e Samariya. Bwe yali ng'ali mu kkubo, ku nnyumba y'abasumba esalirwamu ebyoya by'endiga, n'asisinkana baganda ba Ahaaziya eyali kabaka wa Buyudaaya, n'ababuuza nti: “Mmwe b'ani?” Ne bamuddamu nti: “Tuli baganda ba Ahaaziya. Tugenda Yezireeli okulamusa ku baana ba kabaka n'abaana ba Nnamasole Yezebeeli.” Yeehu n'alagira basajja be nti: “Mubakwate nga balamu!” Ne babakwata, ne babattira ku bunnya bw'ennyumba esalirwamu ebyoya by'endiga. Baali abasajja amakumi ana mu babiri, n'atalekaawo n'omu ku bo. Yeehu bwe yava awo, n'asanga Yehonadaabu mutabani wa Rekabu ng'ajja okumusisinkana. Yeehu n'amulamusa, n'amugamba nti: “Ggwe nange tuli ba ndowooza emu?” Yehonadaabu n'addamu nti: “Ddala bwe kiri.” Yeehu n'agamba nti: “Oba bwe kiri, kale nsika mu mukono.” Yehonadaabu n'amusika mu mukono. Yeehu n'amulinnyisa mu ggaali lye. N'amugamba nti: “Jjangu tugende ffenna, olabe nga bwe nneewaddeyo okutuukiriza ebya Mukama.” Awo ne bagenda bonna mu ggaali lye. Bwe baatuuka e Samariya, Yeehu n'atta ab'ennyumba ya Ahabu bonna abaali bakyasigaddewo mu Samariya, nga Mukama bwe yagamba Eliya. Awo Yeehu n'ayita abantu bonna ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Ahabu yasinzanga lubaale Baali katono, naye nze nja kumusinza nnyo. Kale nno mumpitire abalaguzi bonna aba Baali, n'abamusinza bonna, ne bakabona be bonna, waleme kubulawo n'omu, kubanga nnina ekitambiro ekikulu kye ŋŋenda okuwaayo eri Baali. Buli anaabulawo ku bo ajja kuttibwa.” Kyokka Yeehu yakola bw'atyo ng'asala lukwe, alyoke azikirize bonna abaali basinza Baali. Awo Yeehu n'alagira nti: “Mulangirire olukuŋŋaana olw'okusinzizaamu Baali.” Ne balulangirira. Yeehu n'atumya mu Yisirayeli yonna, bonna abasinza Baali. Ne bajja, ne watasigalayo n'omu. Ne bayingira mu ssabo lya Baali, lyonna ne lijjula, Yeehu n'agamba oyo akulira etterekero ly'ebyambalo nti: “Bonna abasinza Baali baggyiireyo ebyambalo.” N'abibaggyirayo. Yeehu ne Yehonadaabu mutabani wa Rekabu ne bayingira mu ssabo lya Baali, Yeehu n'agamba abasinza Baali nti: “Mwetegereze mulabe nga tewali n'omu mu mmwe wano asinza Mukama, wabula abasinza Baali bokka.” Awo ne bayingira okuwaayo ekitambiro n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba. Era Yeehu yali ataddewo abasajja kinaana ebweru w'essabo, ng'abagambye nti: “Oyo anaabaako gw'aleka okutoloka ku bantu be nnaabakwasa mmwe, ye anattibwa mu kifo kye.” Bwe baamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeehu n'agamba abakuumi n'abakungu nti: “Muyingire, mubatte, waleme kubaawo n'omu atoloka.” Ne basowola ebitala ne babatta, emirambo ne bagisuula ebweru. Olwo abakuumi n'abakungu ne bayingira munda ddala mu ssabo lya Baali. Ne baggyamu ebifaananyi bya balubaale ebyalimu ne babyokya. Ne bamenyawo ekifaananyi kya Baali n'essabo lye, we lyali ne bafuulawo ekifo eky'okweteewululizaamu, era bwe kiri n'okutuusa kati. Bw'atyo Yeehu bwe yazikiriza okusinza Baali, n'akumalirawo ddala mu Yisirayeli. Wabula naye yakola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli ekibi eky'okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beteli ne mu Daani. Mukama n'agamba Yeehu nti: “Nga bw'okoze obulungi bye nsiima, n'otuukiriza ku b'ennyumba ya Ahabu byonna bye nayagala bakolebweko, ab'ezzadde lyo okutuusa ku bannakana balituula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli.” Kyokka Yeehu n'atassaayo mwoyo kukoleranga ku mateeka ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli n'omutima gwe gwonna, n'asigala ng'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu bye yakola n'aleetera Yisirayeli okwonoona. Mu kiseera ekyo, Mukama n'atandika okukendeeza ku nsi ya Yisirayeli: Hazayeeli kabaka wa Siriya n'awangula ekitundu kya Yisirayeli kyonna eky'oku nsalo, okuva ku Mugga Yorudaani okudda ebuvanjuba, ensi y'e Gileyaadi ey'Abagaadi, n'Abarewubeeni, n'Abamanasse, okuva ku kibuga Aroweri okumpi n'Omugga Arunoni, kye kitundu kyonna eky'e Gileyaadi ne Basani. N'ebirala byonna Yeehu bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Yeehu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samariya, mutabani we Yehoyahaazi n'amusikira ku bwakabaka. Yeehu yali afugidde Yisirayeli mu Samariya, okumala emyaka amakumi abiri mu munaana. Awo Ataliya nnyina Kabaka Ahaaziya bwe yalaba nga mutabani we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza bonna ab'olulyo olulangira. Naye Yehoseba muwala wa Kabaka Yoraamu era mwannyina Ahaaziya, n'awonyaawo mu bubba Yowaasi omu ku batabani ba Ahaaziya, ng'amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n'amukweka wamu n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu, bw'atyo n'amuwonya okuttibwa Ataliya. Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu Ssinzizo okumala emyaka mukaaga, nga Ataliya ye afuga eggwanga. Awo mu mwaka ogw'omusanvu, Yehoyaada kabona n'atumya abaduumizi b'ekikumi kikumi eky'abakuumi ba kabaka abayitibwa Abakoriti, n'atumya n'abakulira abakuumi b'olubiri, n'abayita ne bajja gy'ali mu Ssinzizo, n'akola nabo endagaano ng'abalayiza okutuukiriza ky'ategese okukola. N'abanjulira mutabani wa kabaka, Omulangira Yowaasi, n'abalagira nti: “Kino kye muba mukola: bwe munajja okukuuma mu mpalo zammwe ku Sabbaato, ekimu ekyokusatu ku mmwe banaakuuma olubiri lwa kabaka, n'ekimu ekyokusatu, banaaba ku mulyango Suuri, era n'ekimu ekyokusatu banaaba ku mulyango oguli emabega w'ekifo ky'abakuumi. Bwe mutyo bwe munaakuuma olubiri lwa kabaka, mube olukomera. Ab'ebibinja ebibiri abamazeeko empalo zaabwe ku Sabbaato, banaakuuma Essinzizo nga beetoolodde kabaka. Munaayimirira nga mwetoolodde kabaka enjuyi zonna, buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye. Buli anaayingira mu nnyiriri zammwe wa kuttibwa. Munaabeera wamu ne kabaka buli w'anaagenda.” Abaduumizi b'ekikumi kikumi ne bakola byonna Yehoyaada kabona bye yalagira: buli muduumizi n'atwala basajja be abaali bayingira okukola, wamu n'abo abaali bannyuka ku mulimu ku Sabbaato. Ne bajja eri Yehoyaada kabona. Awo Yehoyaada kabona n'awa abaduumizi b'ekikumi kikumi amafumu n'engabo ebya Kabaka Dawudi, ebyali mu Ssinzizo. Abakuumi ne bayimirira buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye, okwetooloola kabaka enjuyi zonna, okuva ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, okutuuka ku ludda lwalyo olwa kkono, wakati wa alutaari, n'Essinzizo. Awo Yehoyaada n'afulumya omulangira, n'amutikkira engule ey'obwakabaka, n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu Amateeka. Yowaasi ne bamufukako omuzigo, ne bamufuula kabaka, ne bakuba mu ngalo nga bwe bagamba nti: “Kabaka awangaale!” Ataliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abakuumi n'olw'abantu abalala, n'ajja mu Ssinzizo abantu gye baali bakuŋŋaanidde. Bwe yatuukayo bw'ati, n'alaba kabaka gwe baali baakateekako, ng'ayimiridde awali empagi, awayimirirwa kabaka ng'empisa bwe yali, ng'abakungu n'abafuuyi b'amakondeere bamuli kumpi. Ne bannansi bonna baali basanyuka era nga bafuuwa amakondeere. Ataliya n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, nga bw'agamba nti: “Mundiddemu olukwe! Mundiddemu olukwe!” Yehoyaada kabona teyayagala Ataliya kuttirwa mu bitundu bya Ssinzizo, kyeyava alagira abaduumizi b'abaserikale ekikuumi kikumi nti: “Mumufulumye nga mumuyisa mu nnyiriri z'abaserikale. Buli anaamugoberera ng'agezaako okumutaasa, mumutte.” Ne bakwata Ataliya ne bamutwala ku mulyango embalaasi we ziyingirira mu lubiri lwa kabaka, ne bamuttira eyo. Yehoyaada kabona n'akkirizisa kabaka n'abantu, okukola endagaano ne Mukama, ekakasa nti banaabanga bantu ba Mukama, era n'endagaano ekakasa nti wanaabangawo enkolagana ennungi wakati wa kabaka n'abantu. Abantu bonna ab'omu ggwanga ne bayingira mu ssabo lya Baali, ne balimenyaamenya, ne bamenyerawo ddala alutaari ze n'ebifaananyi bye. Mattani kabona we ne bamuttira mu maaso ga zaalutaari. Yehoyaada kabona n'assaawo abakuumi okukuumanga Essinzizo. Awo ye, n'abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, n'abakuumi b'olubiri, ne bannansi bonna, ne baggya kabaka mu Ssinzizo ne bamutwala mu lubiri nga bayita mu Mulyango gw'Abakuumi, n'atuula ku ntebe y'obwakabaka. Awo bannansi bonna ne basanyuka, ekibuga ne kitereera, nga Ataliya amaze okuttibwa. Ataliya yattirwa mu lubiri lwa kabaka. Yowaasi yafuuka kabaka nga wa myaka musanvu. Mu mwaka ogw'omusanvu nga Yeehu ye kabaka wa Yisirayeli, Yowaasi n'afuuka kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Zibiya ow'e Beruseba. Yowaasi n'akola ebisiimibwa Mukama, ebbanga lyonna Yehoyaada kabona lye yamuyigiririzaamu. Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu tebyaggyibwawo, abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro n'okwoterereza obubaane mu bifo ebyo. Awo Yowaasi n'agamba bakabona nti: “Ensimbi zonna eziva mu bintu ebiwongerwa Mukama ne zireetebwa mu Ssinzizo, n'ensimbi buli muntu z'agerekerwa okuwa, wamu n'ezo omuntu z'aba yeetemye yekka okuwa, zikwasibwenga bakabona, buli kabona ng'akwasibwa ez'abo b'akolamu, bazikozese okuddaabiriza Essinzizo buli we liba lyetaaga okuddaabirizibwa.” Naye n'okutuusa mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu nga Yowaasi ye kabaka, bakabona baali tebannaddaabiriza Ssinzizo. Awo Kabaka Yowaasi n'ayita Yehoyaada kabona ne bakabona abalala, n'abagamba nti: “Kiki ekibalobera okuddaabiriza Essinzizo? Kale okuva kati temwongera kuggya nsimbi ku bantu ne muzisigaza, naye muziweeyo zikozesebwe okuddaabiriza Essinzizo.” Bakabona ne bakkiriza obutayongera kuggya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuddaabiriza Essinzizo. Awo Yehoyaada kabona n'addira essanduuko ennene, n'awummula ekituli mu kisaanikira kyayo, n'agiteeka ku mabbali ga alutaari, ku ludda olwa ddyo omuntu ng'ayingira mu Ssinzizo. Bwe baalabanga nga mu ssanduuko muwezeemu ensimbi nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne Ssaabakabona bajjanga ne babala ensimbi ezo ze basanze mu Ssinzizo, ne bazisiba mu bisawo. Ensimbi ezo ezibaliddwa, ne bazikwasa abo abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo, bano ne basasula ababazzi, n'abazimbi abakola ku Ssinzizo, n'abazimbisa amayinja era n'abagakomola. Ne bagula emiti n'amayinja amakomole bikozesebwe mu kuddaabiriza Essinzizo. Ne basasulira n'ebirala byonna ebyetaagisa ku mulimu ogwo. Naye ebikopo ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebbakuli, n'amakondeere, n'ebintu ebirala byonna ebya zaabu oba ebya ffeeza ebikozesebwa mu Ssinzizo, tebyakolebwako na nsimbi ezo ezaaletebwa mu Ssinzizo. Zonna zaakozesebwa kusasula bakozi na kugula byonna ebyakozesebwa mu kuddaabiriza Essinzizo. Era abantu be baakwasanga ensimbi okusasula abakozi tebaabasabanga kunnyonnyola ngeri gye bazikozesezzaamu, kubanga abantu abo baazikozesanga na bwesigwa. Ensimbi ezaaweebwangayo nga za mutango olw'emisango oba nga za kiweebwayo olw'ebibi, tebaazireetanga mu Ssinzizo. Zaabanga za bakabona. Mu kiseera ekyo Hazayeeli kabaka wa Siriya n'alumba Ekibuga Gaati n'akiwangula, n'akyukira ne Yerusaalemu okukirwanyisa. Yowaasi kabaka wa Buyudaaya, n'addira ebintu byonna Yehosafaati ne Yehoraamu ne Ahaaziya, bajjajjaabe bassekabaka ba Buyudaaya bye baawongera Mukama, era n'ebyo ye yennyini Yowaasi bye yali awonze, ne zaabu yenna eyasangibwa mu ggwanika ly'Essinzizo ne mu ly'olubiri lwa kabaka, n'abiweereza Hazayeeli kabaka wa Siriya, Hazayeeli n'alekayo okulumba Yerusaalemu, n'agenda. N'ebirala byonna Yowaasi bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Abakungu be ne bakola olukwe, ne bamuttira mu nnyumba ey'omu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo, ku kkubo erigenda e Silla. Abakungu be, Yozakaari mutabani wa Simeyaati, ne Yehozabbaali mutabani wa Someeri, be baamufumita n'akisa omukono. Yowaasi yaziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi, mutabani we Amaziya n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu nga Yowaasi mutabani wa Ahaaziya ye kabaka wa Buyudaaya, Yehoyahaazi mutabani wa Yeehu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi na musanvu. N'anyiiza Mukama, ng'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, n'atava mu bibi ebyo. Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayeli, n'aleka Hazayeeli kabaka wa Siriya, ne mutabani we Benihadadi okubawangulanga bulijjo. Awo Yehoyahaazi ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira, kubanga yalaba kabaka wa Siriya bw'ayisa obubi Abayisirayeli. Mukama n'awa Abayisirayeli omununuzi, ne baggyibwa mu bufuzi bw'Abassiriya. Abayisirayeli ne babeera mu ddembe nga bwe baabanga edda. Kyokka ne batava mu bibi ab'ennyumba ya Yerobowaamu bye baabaleetera okukola ne bongera okubikolanga, n'ekifaananyi kya Asera lubaale omukazi ne kisigala mu Samariya. Yehoyahaazi n'atasigazaawo ggye okuggyako abasajja amakumi ataano abeebagala embalaasi, amagaali kkumi, n'abaserikale omutwalo gumu abatambula ku bigere, kubanga kabaka wa Siriya yali azikirizza abalala bonna, n'abalinnyirira ng'enfuufu ey'omu gguuliro. N'ebirala byonna Yehoyahaazi bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Yehoyahaazi n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samariya, mutabani we Yehowaasi n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu nga Yowaasi ye kabaka wa Buyudaaya, Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi na mukaaga. Era naye n'akola ebitasiimibwa Mukama. N'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, era n'atabivaamu. N'ebirala byonna Yehowaasi bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira mu kulwanyisa Amaziya kabaka wa Buyudaaya, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Yehowaasi n'akisa omukono, ne yegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa e Samariya, mu masiro ga bassekabaka ba Yisirayeli, mutabani we Yerobowaamu n'amusikira ku bwakabaka. Awo Elisa n'alwala obulwadde obwamuviirako okufa. Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'agenda gy'ali okumulaba. N'amugamba nga bw'akaaba n'amaziga nti: “Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Yisirayeli!” Elisa n'amugamba nti: “Kwata omutego n'obusaale.” Yehowaasi n'akwata omutego n'obusaale. Elisa n'agamba Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli nti: “Teeka omukono gwo ku mutego.” Kabaka n'aguteekako. Elisa n'aleeta emikono gye ku mikono gya kabaka. N'agamba nti: “Ggulawo eddirisa eritunudde ebuvanjuba.” N'aliggulawo. Awo Elisa n'agamba nti: “Lasa akasaale.” Kabaka n'alasa. Elisa n'agamba nti: “Ako ke kasaale akanaawangula Siriya. Olirwanyisa Abassiriya mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo.” Awo Elisa n'agamba Kabaka nti: “Kwata obusaale.” Kabaka wa Yisirayeli n'abukwata. Elisa n'amugamba nti: “Kuba ku ttaka.” Kabaka n'akuba ku ttaka emirundi esatu, n'alekera awo. Omusajja wa Katonda n'asunguwalira kabaka, n'amugamba nti: “Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga. Olwo wandikubye Abassiriya okutuusa lwe wandibazikirizza! Naye kaakano ojja kubawangula emirundi esatu gyokka.” Awo Elisa n'afa, ne bamuziika. Ebibinja by'Abamowaabu byazindanga ensi ya Yisirayeli omwaka nga gutandika. Lwali lumu abamu ku Bayisirayeli bwe baali nga baliko omusajja gwe baziika, ne balaba ekimu ku bibinja ebyo nga kijja. Ne basuula omulambo mu ntaana ya Elisa. Omulambo gw'omusajja olwakoona ku magumba ga Elisa, omusajja n'alamuka, n'ayimirira ku magulu ge. Hazayeeli kabaka wa Siriya n'anyigiriza Abayisirayeli mu mulembe gwonna ogwa Kabaka Yehoyahaazi. Kyokka Mukama n'abakwatirwa ekisa, n'abasaasira. N'akyukira gye bali olw'endagaano gye yakola ne Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu kiseera ekyo. Awo Hazayeeli kabaka wa Siriya n'akisa omukono, mutabani we Benihadadi n'amusikira ku bwakabaka. Awo Yowaasi mutabani wa Yehoyahaazi n'awangula Benihadadi emirundi esatu, n'amuggyako ebibuga bya Yisirayeli, Benihadadi oyo bye yali awambye ng'alwanyisa Yehoyahaazi kitaawe wa Yehowaasi. Mu mwaka ogwokubiri nga Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi ye kabaka wa Yisirayeli, Amaziya mutabani wa Yowaasi n'afuuka kabaka wa Buyudaaya. Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina yali Yehoyaddini ow'e Yerusaalemu. Amaziya n'akola ebyo ebisiimibwa Mukama. Kyokka yali teyenkana Dawudi jjajjaawe. Yakola ng'ebyo byonna Yowaasi kitaawe bye yakolanga. Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, teyabiggyaawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro, n'okunyookerezanga obubaane mu bifo ebyo. Awo Amaziya bwe yamala okwenyweza ku bwakabaka, n'atta abaweereza be abatta kitaawe, Ssekabaka Yowaasi. Kyokka n'atatta baana baabwe, wabula n'agoberera ekyo ekyawandiikibwa mu Kitabo eky'Amateeka ga Musa, nga Mukama bwe yalagira nti: “Abazadde tebattibwenga lwa misango gya baana baabwe, n'abaana tebattibwenga lwa misango bazadde baabwe gye bazza. Omuntu anattibwanga lwa musango ye yennyini gwe yazza.” Amaziya n'attira mu Kiwonvu ky'Omunnyo abaserikale Abeedomu omutwalo gumu, n'awamba ekibuga Sela mu lutalo, n'akituuma erinnya Yokuteeli, lye kikyayitibwa ne leero. Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Kabaka Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi era muzzukulu wa Yeehu, bassekabaka ba Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu twolekaganye obwanga.” Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'atumira Amaziya kabaka wa Buyudaaya ng'agamba nti: “Omwennyango ogwali ku lusozi Lebanooni gwatumira omuvule era ogwali ku Lebanooni, nga gugamba nti: ‘Mutabani wange muwe muwala wo amuwase.’ Ensolo ey'omu ttale ey'oku Lebanooni bwe yali eyitawo, n'erinnyirira omwennyango ogwo. Kituufu owangudde Edomu, ekyo ne kikuleetera okwegulumiza. Kale beera ewuwo okyenyumiririzeemu. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Buyudaaya yonna?” Kyokka Amaziya n'agaana okuwuliriza. Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'avaayo okulumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Buyudaaya ne boolekaganyiza obwanga e Betisemesi ekya Buyudaaya. Yisirayeli n'ewangula Buyudaaya, buli muserikale wa Buyudaaya n'adduka n'addayo ewaabwe. Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba kabaka wa Buyudaaya, Amaziya mutabani wa Yowaasi era muzzukulu wa Ahaaziya. Yamuwambira Betisemesi, n'amuleeta e Yerusaalemu. Yehowaasi n'amenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu, okuva ku Mulyango gwa Efurayimu, okutuuka ku Mulyango ogw'oku Nsonda, bwe buwanvu bwa mita nga kikumi mu kinaana. N'anyaga zaabu ne ffeeza yenna era n'ebintu byonna bye yasanga mu Ssinzizo, n'ebyobugagga eby'omu lubiri lwa kabaka, era n'abantu be yatwala ng'omusingo. N'addayo e Samariya. N'ebirala byonna Yehowaasi bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, ne bwe yalwanyisa Amaziya kabaka wa Buyudaaya byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Yehowaasi n'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa e Samariya mu masiro ga bassekabaka ba Yisirayeli. Mutabani we Yerobowaamu n'amusikira ku bwakabaka. Amaziya mutabani wa Yowaasi era kabaka wa Buyudaaya yawangaala emyaka kkumi n'etaano nga Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi era kabaka wa Yisirayeli amaze okukisa omukono. N'ebirala byonna Amaziya bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Ne wabaawo abaakola olukwe mu Yerusaalemu okutta Amaziya, Amaziya n'addukira mu kibuga ky'e Lakisi. Naye ne baweereza abantu okumulondoola e Lakisi, ne bamuttirayo. Enjole ye ne bagireetera ku mbalaasi, ne bamuziika mu Yerusaalemu we baaziika bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi. Abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne balonda Azariya eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga, ne bamufuula kabaka okusikira Amaziya kitaawe. Azariya n'azza Ekibuga Elati eri Buyudaaya era n'akizimba buggya, nga kitaawe amaze okukisa omukono n'okwegatta ku bajjajjaabe. Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano nga Amaziya mutabani wa Yowaasi ye kabaka wa Buyudaaya, Yerobowaamu mutabani wa Yehowaasi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka amakumi ana mu gumu. N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona. Yawangula n'azzaayo ensalo ya Yisirayeli okuva Awayingirirwa mu Hamati okutuuka ku Nnyanja Enfu, nga Mukama Katonda wa Yisirayeli bwe yagamba ng'ayita mu muweereza we, Omulanzi Yona mutabani wa Amittayi, ow'e Gaati Heferi. Mukama n'alaba ng'Abayisirayeli babonaabona nnyo, era nga tewali n'omu wa kubayamba wadde omuto oba omukulu. Kyokka Mukama yali tayagala kusaanyaawo Bayisirayeli ku nsi. Kale n'abawonya ng'ayita mu Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi. N'ebirala byonna Yerobowaamu bye yakola, n'entalo ze ez'obuzira mwe yakomerezaawo Yisirayeli ebibuga Damasiko ne Hamati ebyali ebya Buyudaaya, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Yerobowaamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe bassekabaka ba Yisirayeli, mutabani we Zekariya n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Yerobowaamu Owookubiri ye kabaka wa Yisirayeli, Azariya mutabani wa Amaziya n'afuuka kabaka wa Buyudaaya, nga wa myaka kkumi na mukaaga, n'afugira mu Yerusaalemu emyaka ataano mu ebiri. Nnyina yali Yekoliya ow'e Yerusaalemu. Azariya n'akola ebyo Mukama by'asiima, ng'ebyo Amaziya kitaawe bye yakolanga. Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu teyabiggyaawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro, n'okunyookerezanga obubaane mu bifo ebyo. Awo Mukama n'alwaza Azariya ebigenge, n'aba mugenge okutuusa okufa. N'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka. Mutabani we Yotamu nga ya abeera mu lubiri, era nga ye afuga ensi eyo. N'ebirala byonna Azariya bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Azariya n'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi, mutabani we Yotamu n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Zekariya mutabani wa Yerobowaamu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyezi mukaaga. N'akola ebibi n'anyiiza Mukama nga bajjajjaabe bwe baakolanga. N'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona. Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'amukolera olukwe, n'amufumitira mu maaso g'abantu, n'amutta, n'afuga mu kifo kye. N'ebirala byonna Zekariya bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Ekyo Mukama kye yagamba Yeehu nti: “Ab'ezzadde lyo balibeera bakabaka ba Yisirayeli okutuuka ku zzadde eryokuna,” bwe kityo ne kituukirira. Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Sallumu mutabani wa Yabesi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya omwezi gumu. Awo Menahemu mutabani wa Gaadi, n'ava e Tiruza n'ajja e Samariya, n'atta Sallumu, n'afuga mu kifo kye. N'ebirala byonna Sallumu bye yakola, omuli n'eby'olukwe lwe yakola okutta Zekariya, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Awo Menahemu n'azikiriza Ekibuga Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ebitundu ebikiriraanye okuviira ddala e Tiruza, kubanga tebaamuggulirawo. N'abakazi bonna abaali embuto abaakirimu n'ababaaga! Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Menahemu mutabani wa Gaadi, n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi. N'akola ebibi n'anyiiza Mukama. Ennaku zonna ez'obulamu bwe, n'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ebyaleetera Yisirayeli okwonoona. Puuli kabaka wa Assiriya, n'alumba Yisirayeli. Menahemu n'awa Puuli oyo talanta lukumi eza ffeeza, Puuli ayambe Menahemu okunyweza obuyinza bwe mu bwakabaka. Ensimbi ezo ez'okuwa kabaka wa Assiriya, Menahemu n'azisolooza ku basajja bonna abagagga ab'omu Yisirayeli, buli musajja n'awa sekeli amakumi ataano eza ffeeza. Kabaka wa Assiriya n'addayo ewaabwe, n'atasigala mu nsi eyo eya Yisirayeli. N'ebirala byonna Menahemu bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Menahemu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, mutabani we Pekahiya n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'amakumi ataano nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Pekahiya mutabani wa Menahemu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka ebiri. N'akola ebibi n'anyiiza Mukama. N'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona. Awo omuduumizi w'eggye lye ayitibwa Peka, mutabani wa Remaaliya, n'akola olukwe n'abasajja amakumi ataano abaava e Gileyaadi, n'amufumitira e Samariya mu kigo ekigumu eky'okwerindiramu ekyomunda mu lubiri, n'amutta, wamu ne Arugobu, ne Ariye. N'afuuka kabaka mu kifo kye. N'ebirala byonna Pekahiya bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Mu mwaka ogw'amakumi ataano mu ebiri nga Azariya, ye kabaka wa Buyudaaya, Peka mutabani wa Remaaliya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka amakumi abiri. N'akola ebibi n'anyiiza Mukama. N'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona. Mu mulembe gwa Peka, kabaka wa Yisirayeli, Tigulati Pileseri kabaka wa Assiriya, n'ajja n'awamba ebibuga Yijoni ne Abeli Beeti Maaka, ne Yanowa, ne Kedesi, ne Hazori, n'ebitundu by'e Gileyaadi, n'eby'e Galilaaya n'eby'e Nafutaali, abantu n'abatwala mu Assiriya nga basibe. Mu mwaka ogw'amakumi abiri nga Yotamu mutabani wa Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Hoseya mutabani wa Ela, n'akola olukwe, n'afumita Peka mutabani wa Remaaliya, n'amutta, n'afuuka kabaka mu kifo kye. N'ebirala byonna Peka bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli. Mu mwaka ogwokubiri nga Peka mutabani Remaaliya ye kabaka wa Yisirayeli, Yotamu mutabani wa Azariya n'afuuka kabaka wa Buyudaaya, nga wa myaka amakumi abiri mu ettaano, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. Nnyina yali Yerusa, muwala wa Zaddooki. Yotamu n'akolanga ebirungi n'asanyusa Mukama nga Azariya kitaawe bye yakolanga. Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu tebyaggyibwawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro n'okwoterezanga obubaane mu bifo ebyo. Yotamu n'azimba omulyango ogw'ekyengulu ogw'Essinzizo. N'ebirala byonna Yotamu bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Mu mulembe gwa Yotamu, Mukama mwe yatandikira okusindika Rezini kabaka wa Siriya ne Peka kabaka wa Yisirayeli era mutabani wa Remaaliya, ne balumba Buyudaaya. Awo Yotamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe. Mutabani we Ahazi n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu nga Peka mutabani wa Remaaliya ye kabaka wa Yisirayeli, Ahazi mutabani wa Yotamu, n'afuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi abiri, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. N'atakola birungi ebisanyusa Mukama, Katonda we, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakolanga. Kyokka n'agoberera empisa embi eza bassekabaka ba Yisirayeli, era n'ayokya ne mutabani we mu muliro ng'ekitambiro, nga bwe yali empisa eyenyinyalwa ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka. N'awangayo ebitambiro, era n'anyookerezanga obubaane mu bifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, ne ku nsozi, ne wansi wa buli muti ogw'amakoola. Awo Rezini kabaka wa Siriya, ne Peka mutabani wa Remaaliya era kabaka wa Yisirayeli, ne bajja okulumba Yerusaalemu. Ne bazingiza Ahazi, kyokka ne batayinza kuwangula. Mu kiseera ekyo Rezini kabaka wa Siriya mwe yawangulira Elati, ne kiba kya Siriya, n'akigobamu Abayudaaya abaakirimu, Abassiriya ne babeera mu Elati n'okutuusa kati. Awo Ahazi n'atumira Tigulati Pileseri kabaka wa Assiriya ababaka ng'agamba nti: “Nze ndi muweereza wo era mwana wo. Jjangu omponye kabaka wa Siriya ne kabaka wa Yisirayeli abannumbye.” Awo Ahazi n'aggyayo ffeeza ne zaabu eyasangibwawo mu Ssinzizo ne mu ggwanika ly'olubiri lwa kabaka, n'amuweereza kabaka wa Assiriya, nga kye kirabo ky'amuwadde. Kabaka wa Assiriya n'akkiriza, n'alumba Ekibuga Damasiko, n'akiwamba, n'atta Kabaka Rezini, n'atwala abaayo e Kiri nga basibe. Awo kabaka Ahazi n'agenda e Damasiko okusisinkana Tigulati Peleseri kabaka wa Assiriya. Ahazi n'alaba alutaari eyali e Damasiko, n'aweereza Wuriya kabona ekifaananyi ky'alutaari eyo, ekiraga engeri yonna gye yakolebwamu. Wuriya kabona n'azimba alutaari ng'agoberera ebyo byonna Kabaka Ahazi bye yamuweereza ng'asinziira e Damasiko. Bw'atyo bwe yagikola, n'agimaliriza nga Kabaka Ahazi tannakomawo okuva e Damasiko. Kabaka bwe yakomawo ng'ava e Damasiko, n'alaba alutaari eyo, n'agisemberera, n'aweerayo ku yo ekitambiro. N'ayokerako ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ayiwako ekiweebwayo eky'ebyokunywa, n'amansirako omusaayi gw'ekiweebwayo olw'okutabagana. Alutaari ey'ekikomo eyali ewongeddwa Mukama yali wakati w'alutaari empya n'ennyumba eyoomunda mu Ssinzizo. Ahazi n'agiggyawo, n'agiteeka ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari empya. Awo Kabaka Ahazi n'alagira Wuriya Kabona nti: “Ku alutaari eno ennene kw'obanga oyokera ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekya buli kawungeezi, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke ebya kabaka n'eby'abantu bonna mu ggwanga, n'ebiweebwayo byabwe eby'ebyokunywa. Era kw'onoomansiranga omusaayi gw'ensolo zonna ezitambiddwa. Naye alutaari ey'ekikomo eneebanga yange ya kwebuulizaako eri Mukama.” Wuriya kabona n'akola byonna nga Kabaka Ahazi bwe yamulagira. Kabaka Ahazi n'asalako emigo ku bikondo ebyali bikozesebwa mu Ssinzizo, n'aggyamu ebbenseni ezaali ku byo. Era n'aggya ogutanka ogw'ekikomo ku bifaananyi by'ente ekkumi n'ebbiri eby'ekikomo n'aguteeka ku musingi ogw'amayinja amaaliire. Olukuubo olusereke olw'okuyitamu ku Sabbaato olwali luzimbiddwa munda w'olubiri, n'omulyango Kabaka gwe yayingirirangamu mu Ssinzizo, n'abiziba okusanyusa kabaka wa Assiriya. N'ebirala byonna Ahazi bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Ahazi n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi, mutabani we Heezeekiya n'amusikira ku bwakabaka. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga Ahazi ye kabaka wa Buyudaaya, Hoseya mutabani wa Ela n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka mwenda. N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, kyokka n'atenkana bassekabaka ba Yisirayeli abaamusooka. Kabaka Salumaneseri owa Assiriya n'alumba Hoseya n'amulwanyisa mu lutalo, n'amuwangula, Hoseya n'awanga Salumaneseri omusolo. Naye kabaka oyo owa Assiriya, n'amanya olukwe lwa Hoseya olw'okujeema, nga Hoseya atumidde So, kabaka wa Misiri ababaka amuyambe, bw'atyo Hoseya n'atawa kabaka wa Assiriya musolo nga bwe yakolanga buli mwaka. Awo kabaka wa Assiriya n'akwata Hoseya n'amusiba mu kkomera. Awo kabaka wa Assiriya n'alumba ensi ya Yisirayeli, n'azingiza Ekibuga Samariya okumala emyaka esatu. Mu mwaka ogw'omwenda nga Hoseya ye kabaka wa Yisirayeli, kabaka wa Assiriya n'awamba Ekibuga Samariya, n'atwala ab'omu Yisirayeli mu Assiriya nga basibe, abamu n'abateeka mu Kibuga Hala, abalala mu Kitundu ky'e Gozani okumpi n'Omugga Habori, ne mu bibuga by'Abameedi. Ekyo kyabaawo, kubanga Abayisirayeli baakola ebibi ne banyiiza Mukama, Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri mu mikono gya kabaka waayo, ne basinzanga balubaale, ne bagoberera empisa z'ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo nga bo Abayisirayeli banaatera okutuuka, era ne bakolera ku bulombolombo bassekabaka ba Yisirayeli bwe baateekawo. Abayisirayeli ne bakoleranga mu kyama ebintu ebitali birungi era ebitasanyusa Mukama, Katonda waabwe. Ne beezimbira ebifo ebigulumivu eby'okusinzizangamu mu bibuga byabwe byonna ebinene n'ebitono. Ne basimba ku buli lusozi oluwanvu, na buli wansi wa muti ogw'amakoola empagi z'amayinja n'ebifaananyi bya Asera, lubaale omukazi. Ne banyookerezanga obubaane mu bifo byonna ebigulumivu, ng'ab'amawanga amalala abo bwe baakolanga, Mukama be yaggyawo nga bo Abayisirayeli banaatera okutuuka. Ne bakolanga ebibi, ne basunguwaza Mukama, ne basinza ebyo ebitali Katonda, Mukama bye yabagamba nti: “Temuubisinzenga!” Mukama n'alabulanga Yisirayeli ne Buyudaaya ng'ayita mu buli mulanzi ne mu buli mulabi, ng'agamba nti: “Mukyuke, mulekeeyo empisa zammwe embi, mukwate ebiragiro byange bye nabateerawo mu mateeka gange ge nawa bajjajjammwe nga mpita mu baweereza bange abalanzi.” Kyokka ne batawulira, wabula ne bakakanyaza emitima gyabwe nga bajjajjaabwe abaagaana okwesiga Mukama, Katonda waabwe, bwe baakola. Ne bagaana okukwata amateeka ge, n'okukuuma endagaano gye yakola ne bajjajjaabwe, ne batafa ku kulabula kwe yabalabulamu. Ne basinza ebitagasa, nabo ne bafuuka ebitagasa, ne bagoberera empisa z'ab'amawanga agabeetoolodde, nga sso Mukama yabagaana okuyisa ng'ab'amawanga ago. Ne bava ku biragiro byonna ebya Mukama, Katonda waabwe, ne beekolera mu kyuma ekisaanuuse ebifaananyi bye banaasinzanga: ennyana bbiri, n'ekifaananyi kya lubaale omukazi, Asera. Ne basinzanga emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, era ne baba baweereza ba Baali. Ne bawangayo abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala ne baba ebitambiro ebyokebwa. Ne balagulwanga era ne bakolanga eby'obulogo, ne beeweerangayo ddala okukola ebibi, ne banyiiza Mukama. Mukama bw'atyo n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'abagoba mu maaso ge ne watasigalawo n'omu, okuggyako ab'omu Buyudaaya bokka. Naye n'ab'omu Buyudaaya ne batakwatanga biragiro bya Mukama, Katonda waabwe, wabula ne bagobereranga obulombolombo ab'omu Yisirayeli bwe beeteerawo. Mukama n'aboola Abayisirayeli bonna, n'ababonereza ng'abawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge. Mukama bwe yayawula Yisirayeli ku b'ennyumba ya Dawudi, ab'omu Yisirayeli, Yerobowaamu mutabani wa Nebaati gwe baafuula kabaka waabwe. Yerobowaamu oyo, n'asigula ab'omu Yisirayeli okuva ku Mukama, bw'atyo n'abaleetera okukola ekibi ekinene. Ab'omu Yisirayeli ne bagoberera Yerobowaamu, ne bongera okukolanga ebibi byonna Yerobowaamu bye yakola, okutuusa Mukama lwe yabaggya mu maaso ge nga bwe yabalabula ng'ayita mu baweereza be bonna abalanzi. Awo ab'omu Yisirayeli ne baggyibwa mu nsi yaabwe, ne batwalibwa mu Assiriya gye bakyali ne leero. Awo kabaka wa Assiriya n'asengula abantu okubaggya mu bibuga Babilooni, ne Kuuti, ne Avva, ne Hamati, ne Sefarivayimu, n'abasenza mu bibuga bya Samariya, mu kifo ky'Abayisirayeli. Abantu abo ne beefuga ensi y'e Samariya, ne babeera mu bibuga byayo. Bwe baali baakatandika okubeeramu, tebassaamu Mukama kitiibwa, Mukama kyeyava abasindikira empologoma ne zibattamu abamu. Ne wabaawo abaabuulira kabaka wa Assiriya nti: “Abantu be watwala n'obasenza mu bibuga by'e Samariya, tebamanyi mateeka ga lubaale wa mu nsi eyo, lubaale oya kyeyava asindika empologoma, era ziri eri zibatta.” Awo kabaka wa Assiriya n'alagira nti: “Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo agende abeere eyo, abayigirize amateeka ga lubaale w'omu nsi eyo.” Awo omu ku bakabona be baggya mu Samariya, n'agenda n'abeera e Beteli, n'abayigirizanga bwe basaanye okussaamu Mukama ekitiibwa. Naye abantu aba buli ggwanga, mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, ne bongera okwekoleranga ebifaananyi bya balubaale baabwe, ne babiteeka mu nfo ez'okusinzizangamu, Abayisirayeli ze baaleka bakoze. Abantu abaava e Babilooni ne bakola ebifaananyi bya lubaale Sukkoti Benooti, abaava e Kuusi ne bakola ebya lubaale Nerugali, abaava e Hamati ne bakola ebya lubaale Asima; abaava mu Avva ne bakola ebya balubaale Nibuhazi ne Tarutaaki. Abantu abaava e Sefarivayimu ne batambiriranga balubaale baabwe, Adurammeleki ne Anammeleki, abaana baabwe nga babookya mu muliro. Abantu bano, ne Mukama baamusinzanga, era ne beerondangamu mu bo bennyini bakabona abaabaweerangayo ebitambiro mu nfo zaabwe ez'okusinzizangamu, mu bifo ebigulumivu. Bwe batyo ne bassangamu Mukama ekitiibwa, naye era ne babanga baweereza ba balubaale baabwe, nga bagoberera obulombolombo bw'ensi mwe baava. Ne leero bakyakola nga bwe baakolanga edda. Tebassaamu Mukama kitiibwa era tebakwata byabalagirwa n'ebyabakuutirwa, wadde okugondera amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa ab'ezzadde lya Yakobo gwe yatuuma Yisirayeli. Mukama yakola nabo endagaano, n'abakuutira ng'agamba nti: “Temuusinzenga balubaale, temuubavuunamirenga, era temuubenga baweereza baabwe, wadde okuwangayo ekitambiro eri balubaale abo. Naye munaasinzanga Nze Mukama, eyabaggya mu nsi ye Misiri, nga nkozesa amaanyi amangi n'obuyinza obungi. Nze gwe munaavuunamiranga, era Nze gwe munaawanga ebitambiro. Amateeka gonna n'ebiragiro bye nabawandiikira, munassangayo omwoyo okubikwatanga ennaku zonna. Temuusinzenga balubaale. Endagaano gye nkoze nammwe, temugyerabiranga, era temuusinzenga balubaale. Naye Nze Mukama, Katonda wammwe, Nze mubanga musinza, era Nze nnaabawonyanga abalabe bammwe bonna.” Naye abantu abo ne batawulira, wabula ne basigala nga bakyagoberera empisa zaabwe ez'edda. Kale abantu ab'amawanga ago ne basinzanga Mukama, kyokka era ne basinzanga n'ebifaananyi bya balubaale baabwe ebyole. N'abaana baabwe nabo bwe batyo bwe baakolanga, era ne bazzukulu baabwe bwe bakyakola n'okutuusa kati. Mu mwaka ogwokusatu nga Hoseya mutabani wa Ela ye kabaka wa Yisirayeli, Heezeekiya mutabani wa Ahazi n'afuuka kabaka wa Buyudaaya, nga wa myaka amakumi abiri mu etaano, n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Abiya, muwala wa Zekariya. N'akolanga ebirungi ebisanyusa Mukama, ng'ebyo byonna Dawudi jjajjaawe bye yakolanga. N'aggyawo ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, n'ayasaayasa empagi ez'amayinja, n'amenyaamenya ebifaananyi bya lubaale omukazi Asera. N'amenyaamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola, kubanga n'okutuusa mu biro ebyo, Abayisirayeli baali bagunyookeza obubaane. N'aguyita kikomo bukomo. Heezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, ne wataba n'omu amwenkana mu bakabaka bonna aba Buyudaaya abaamusooka n'abaamuddirira. Yanywerera ku Mukama, n'atamuvaako n'akatono, era n'akwata ebiragiro Mukama bye yalagira Musa. Mukama n'abeeranga naye, n'abanga wa mukisa mu byonna bye yakolanga. N'ajeemera kabaka wa Assiriya, n'agaana okumugonderanga. N'awangula Abafilistiya okubatuusa e Gaaza n'ebitundu ebikyetoolodde nga mw'otwalidde ebibuga ebinene n'ebitono. Mu mwaka ogwokuna ogw'obufuzi bwa Heezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu nga Hoseya mutabani wa Ela ye kabaka wa Yisirayeli, Salumaneseri kabaka wa Assiriya n'alumba Ekibuga Samariya, n'akizingiza. Emyaka esatu bwe gyayitawo nga kizingiziddwa, ne kiwangulwa, gwe gwali omwaka ogw'omukaaga ogw'obufuzi bwa Heezeekiya, ate nga gwe gw'omwenda ogw'obufuzi bwa Hoseya, kabaka wa Yisirayeli. Kabaka wa Assiriya n'atwala ab'omu Yisirayeli mu Assiriya, abamu n'abatwala mu Kibuga Hala, abalala mu kitundu ky'e Gozani okumpi n'Omugga Habori, n'abalala mu bibuga by'Abameedi. Samariya kyawangulwa kubanga ab'omu Yisirayeli tebaagondera Mukama, Katonda waabwe, wabula baamenya endagaano gye yakola nabo, ne bajeemera byonna Musa omuweereza we bye yalagira, ne batakkiriza kubiwuliriza, wadde okubituukiriza. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogw'obufuzi bwa kabaka Heezeekiya, Sennakeribu kabaka wa Assiriya n'alumba ebibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo ebigumu, n'abiwangula. Awo Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya n'atumira kabaka wa Assiriya eyali e Lakisi mu kiseera ekyo. Mu bubaka bwe, n'agamba nti: “Nnyonoonye. Ddayo oleme kunnumba. By'ononsalira, nnaabiwa.” Kabaka wa Assiriya n'asalira Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya ffeeza talanta ebikumi bisatu, ne zaabu talanta amakumi asatu. Heezeekiya n'amuwa ffeeza yenna eyali mu Ssinzizo, ne mu ggwanika ly'olubiri lwa kabaka. Mu kiseera ekyo, Heezeekiya n'abembula ne zaabu ku nzigi z'Essinzizo, ne ku mpagi zaamu, ye yennyini kabaka Heezeekiya gwe yali abisseeko, n'amuwa kabaka wa Assiriya. Awo kabaka wa Assiriya ng'ali e Lakisi, n'asindika eggye ddene okulumba Heezeekiya e Yerusaalemu. Lyali likulirwa abakungu be basatu ab'oku ntikko. Bwe baatuuka e Yerusaalemu, ne bayimirira ku mukutu oguleeta amazzi okuva mu kidiba eky'ekyengulu, ekiri ku luguudo olugenda ku ggyolezo ly'engoye. Awo ne batumya kabaka. Abakungu ne bagenda okubasisinkana: Eliyakimu, mutabani wa Hilukiya, eyali alabirira olubiri; Sebuna, omuwandiisi mu lubiri; ne Yoowa, mutabani wa Asafu, eyali omukuumi w'ebiwandiiko. Omu ku bakungu Abassiriya n'abagamba nti: “Mugambe Heezeekiya nti: ‘Kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya, akubuuza nti, kiki kye weesiga? Okwogera obwogezi kwe kunadda mu kifo ky'amagezi n'amaanyi ag'okulwana olutalo? Ani kale gwe weesiga n'okutuuka n'okunjeemera? Laba Misiri gwe weesiga, lwe lumuli olwatifu, olufumita ekibatu ky'oyo alwesimbaggirizaako ng'omuggo. Bw'atyo Kabaka w'e Misiri bw'ali ku bonna abamwesiga.’ “Naye bwe muŋŋamba nti: ‘Twesiga Mukama, Katonda waffe.’ Mukama si ye wuuyo Heezeekiya gw'aggyiddewo ebifo bye ebigulumivu bye bamusinzizaamu, era ne zaalutaari ze, Heezeekiya oyo n'agamba abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari y'omu Yerusaalemu yokka?’ Kale kaakano ka mbasoomoze ku lwa mukama wange kabaka wa Assiriya: nja kukuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe bw'onooyinza okuzuulayo abazeebagala. Ggwe atasobola kwaŋŋanga wadde omu ku bakungu asembayo obuto mu ggye lya mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi! Olowooza nga nalumba ekifo kino okukizikiriza nga Mukama si ye annyamba? Mukama yennyini ye yaŋŋamba nti: ‘Lumba ensi eyo ogizikirize.’ ” Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya, ne Sebuna, ne Yoowa, ne bagamba omukungu Omussiriya nti: “Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi Olwaramayika, kubanga tulutegeera, naye toyogera naffe mu Lwebureeyi ng'abantu abali ku kisenge bawulira.” Omukungu Omussiriya n'addamu nti: “Mulowooza nga mukama wange yantuma kubuulira mukama wammwe nammwe mwekka ebigambo bino? Yantuma kubuulira n'abasajja abatuula ku ntikko y'ekigo, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.” Awo omukungu oyo n'ayimirira, n'alangirira mu lulimi lw'Abayudaaya n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Muwulire kabaka omukulu kabaka wa Assiriya ky'abagamba. Abalabula nti Heezeekiya aleme kubalimbalimba, kubanga tayinza kubawonya mmwe kubaggya mu mikono gyange. Era aleme kubasendasenda kwesiga Mukama, ng'agamba nti: ‘Mukama ajja kutuwonya, n'ekibuga kino tekiiweebweyo mu mikono gya kabaka wa Assiriya.’ Temuwuliriza Heezeekiya, kubanga kabaka wa Assiriya agamba nti: ‘Mutabagane nange, mufulume mweweeyo gye ndi.’ Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye, n'eby'emitiini gye, era munaanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe, okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi erimu eŋŋaano n'omwenge, ensi erimu emigaati n'ennimiro z'emizabbibu, ensi erimu omuzigo gw'emizayiti n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme kufa. Naye temuwuliriza Heezeekiya abaguyaaguya ng'agamba nti: ‘Mukama ajja kutuwonya!’ Waliwo lubaale n'omu mu balubaale b'amawanga eyali asobodde okuwonya ensi ye n'agiggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya? Bali ludda wa balubaale b'e Hamati ne Arupaadi? Bali ludda wa balubaale b'e Sefarivayimu, wadde ab'e Hena, n'ab'e Yivva? Baawonya Samariya ne bakiggya mu mikono gyange? Baani ku balubaale bonna ab'ensi abaali bawonyezza ensi yaabwe okugiggya mu mikono gyange, Mukama alyoke asobole okuwonya Yerusaalemu akiggye mu mikono gyange?” Naye abantu ne basirika ne batamuddamu kigambo kubanga kabaka yali abalagidde nti: “Temubaako kye mumuddamu.” Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya era eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoowa mutabani wa Asafu era eyali omukuumi w'ebiwandiiko ebitongole, ne bajja eri Heezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne bamubuulira ebigambo omukungu wa Assiriya by'ayogedde. Awo Kabaka Heezeekiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'ayambala ebikutiya, n'ayingira mu Ssinzizo. N'atuma Eliyakimu eyali alabirira olubiri lwa kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, n'abamu ku bakabona abakulu, eri Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi. Ne bamugamba nti: “Heezeekiya agamba nti: ‘Olunaku luno, lunaku lwa kubonaabona. Tubonerezeddwa era tuswaziddwa. Tuli ng'omukazi atuusizza okuzaala, sso nga talina maanyi ga kuzaala. Kabaka wa Assiriya atumye omukungu we omukulu okujerega Katonda Nnannyinibulamu. Oboolyawo Mukama, Katonda wo, anassaayo omwoyo ku bigambo byonna omukungu oyo by'ayogedde, n'amukangavvula olw'ebigambo ebyo, Ye Mukama Katonda by'awulidde.’ ” Abakungu ba Kabaka Heezeekiya bwe baatuusa obubaka bwe eri Yisaaya, Yisaaya n'abagamba bagende bagambe mukama waabwe nti: Mugende mugambe mukama wammwe nti: “Mukama agamba nti: ‘Totya bigambo by'owulidde, abakungu ba kabaka w'e Assiriya bye boogedde nga banzivoola. Laba, nja kumukyusa omutima. Ajja kuwulira olugambo, addeyo mu nsi ye, era Nze nja kumuleetera okuttirwayo.’ ” Awo omukungu oyo Omussiriya n'awulira nga kabaka w'ewaabwe avudde e Lakisi, era ng'alwanyisa ab'omu Kibuga Libuna, n'agenda gy'ali. Kabaka wa Assiriya bwe baamubuulira nti: “Tiraka kabaka w'e Etiyopiya wuuli asitudde eggye okukulwanyisa,” n'addamu okutumira Heezeekiya ng'agamba nti: “Mugende mugambe Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya nti: ‘Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'agamba nti Yerusaalemu tekirigabulwa mu mikono gya kabaka w'e Assiriya. Ndowooza wawulira bakabaka b'e Assiriya kye baakola ensi zonna, ze baasalawo okuzikiririza ddala. Ggwe onoowona? Bajjajjange baazikiriza ebibuga Gozani, ne Harani, ne Rezefu, ne batta Abeedeni abaali mu Telassaari. Waliwo ku balubaale baabwe eyasobola okubawonya? Bakabaka bali ludda wa ab'omu bibuga Hamati ne Arupaadi, ne Sefarivayimu, wadde ow'e Hera n'ow'e Yivva?’ ” Awo Heezeekiya n'aggya ebbaluwa ku babaka, n'agisoma. N'ayambuka mu Ssinzizo, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama, n'asaba Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, atuula ku bakerubi, Ggwe Katonda wekka. Ggwe wekka Ggwe ofuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe watonda eggulu n'ensi. Kaakano ayi Mukama, laba ebitutuuseeko. Wulira ebigambo ebyo, Sennakeribu by'aweerezza okukuvuma Ggwe Katonda Nnannyinibulamu. Kyo kituufu, ayi Mukama, bakabaka ba Assiriya baazikiriza amawanga mangi, ensi zaago ne bazifuula matongo. Baayokya balubaale baago, ddala abatali Katonda, wabula ebifaananyi eby'emiti n'eby'amayinja, abantu bye baakola n'emikono gyabwe, kyebaava babazikiriza. Kale nno, ayi Mukama, Katonda waffe, ggwe tuwonye otuggye mu mikono gy'Abassiriya, ab'amawanga gonna ku nsi balyoke bamanye nga Ggwe, ayi Mukama, Ggwe Katonda wekka.” Awo Yisaaya mutabani wa Amozi n'atumira Heezeekiya ng'agamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Mpulidde by'onsabye ebikwata ku Sennakeribu kabaka wa Assiriya. Kino nze Mukama kye ŋŋamba ku ye nti: Ekibuga Siyooni kikunyoomye ggwe, Sennakeribu, era kikusekeredde! Ekibuga Yerusaalemu kikukongodde! Olowooza ani gw'ojereze, gw'ovvodde? Ani gw'oboggoledde era gw'oziimudde? Ye nze, Omutuukirivu wa Yisirayeli. Otumye ababaka bo okunneewaanirako nga bwe wakozesa amagaali go, n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti wasenserera ddala mu bitundu by'ebibira ebisingayo okuba ebikwafu. Weetenze bwe wasima enzizi, n'onywa amazzi mu nsi ez'ebunaayira, era nti ebigere by'abaserikale bo byakaza emigga gyonna egy'e Misiri. “ ‘Tewakiwulirako nti nze nategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa obuyinza, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu okubifuula entuumu z'ebisasiro. Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula. “ ‘Naye mmanyi byonna ebikufaako, ne by'okola, era ne gy'ogenda. Era mmanyi ne bw'ondalukirako. Mmaze okuwulira eddalu lyo, n'okwekulumbaza kwo. Kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja.’ ” Awo Yisaaya n'agamba Kabaka Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero akakulaga ebinaabaawo: mu mwaka guno, ne mu mwaka ogujja, mujja kulya mmere ya kyemeza. Naye mu mwaka oguddako, mulisiga emmere yammwe ne mugikungula. Mulisimba ennimiro z'emizabbibu, ne mulya ebibala byamu. Abo abaliwonawo mu Buyudaaya, balyanya ng'ebimera ebisimba emirandira gyabyo wansi mu ttaka, ne bibala ebibala waggulu. Wajja kubaawo abamu abawonawo mu Yerusaalemu ne ku Lusozi Siyooni. Mukama Nnannyinimagye amaliridde ekyo okukituukiriza. “Bino Mukama by'agamba ku kabaka wa Assiriya: ‘Tajja kuyingira mu kibuga kino, wadde okulasaayo akasaale. Tajja kukirumba na ngabo, wadde okutuuma entuumu z'ettaka okukyetooloola. Mu kkubo mwe yayita ng'ajja, era mw'aliddirayo, nga tayingidde mu kibuga kino. Nze Mukama, njogedde. Nja kutaasa ekibuga kino, nkikuume, olw'ekitiibwa kyange, n'olw'ebyo bye nasuubiza omuweereza wange Dawudi.’ ” Awo olwatuuka, mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abassiriya abaserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Enkeera ku makya, abo bonna nga bafu ba jjo! Awo Sennakeribu kabaka wa Assiriya ne yeemulula n'agenda, n'addayo mu Kibuga Nineeve, n'abeera eyo. Lumu bwe yali mu ssabo ng'asinza lubaale we Nisirooki, batabani be Adurammeleki ne Sarezeeri ne bamutta n'ebitala, ne baddukira mu nsi y'e Ararati, mutabani we Esaraddoni n'amusikira ku bwakabaka. Awo mu biseera ebyo, Heezeekiya n'alwala nnyo kumpi kufa. Omulanzi Yisaaya mutabani wa Amozi n'agendayo okumulaba, n'amugamba nti: “Teekateeka eby'omu maka go, kubanga ogenda kufa, tojja kuwona.” Awo Heezeekiya n'akyuka n'atunula ku kisenge, ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, jjukira bwe mbadde omwesigwa mu maaso go, nga nkugondera n'omutima gwange gwonna, era nga mbadde nfuba bulijjo okutuukiriza by'osiima!” Heezeekiya n'akaaba nnyo amaziga. Awo Yisaaya bwe yali tannayita na mu luggya olwawakati, Mukama n'amugamba nti: “Ddayo ogambe Heezeekiya omukulembeze w'abantu bange nti: ‘Mukama, Katonda wa Dawudi jjajjaawo agamba nti: Mpulidde ky'osabye, era ndabye amaziga go. Kale nja kukuwonya. Ku lunaku olwokusatu ojja kuyingira mu Ssinzizo. Ndyongera emyaka kkumi n'etaano ku bulamu bwo era ndikuwonya, ne nkuggya ggwe n'ekibuga kino Yerusaalemu mu mikono gya kabaka wa Assiriya. Ndirwanirira ekibuga kino olw'ekitiibwa kyange n'olw'ebyo bye nasuubiza omuweereza wange Dawudi.’ ” Awo Yisaaya n'agamba nti: “Muleete ebibala by'omutiini ebisekule.” Ne babireeta, ne babiteeka ku jjute lya Heezeekiya, Heezeekiya n'assuuka. Awo Heezeekiya n'abuuza Yisaaya nti: “Kabonero ki akakakasa nga Mukama anamponya, era nga ku lunaku olwokusatu, nja kusobola okugenda nnyingire mu Ssinzizo?” Yisaaya n'addamu nti: “Mukama ajja kukuwa akabonero akakakasa ng'ajja kutuukiriza ekyo ky'agambye. Kale oyagala ekisiikirize kigende mu maaso, oba kidde emabega amadaala kkumi?” Heezeekiya n'addamu nti: “Kiba kyangu ekisiikirize okukka amadaala ekkumi mu maaso gye kibadde kigenda. Ekyo nedda, naye ekisiikirize leka kidde emabega amadaala kkumi.” Yisaaya omulanzi ne yeegayirira Mukama, Mukama n'azzaayo ekisiikirize emabega ebbanga ery'amadaala ekkumi ge kyali kigenze mu maaso ku madaala Kabaka Ahazi ge yakola. Mu nnaku ezo, kabaka wa Babilooniya Merodaki Baladani, mutabani wa Baladani, n'awulira nga Heezeekiya bwe yali alwadde. N'amuwandiikirayo ebbaluwa n'agimuweereza wamu n'ekirabo. Heezeekiya n'ayaniriza abaabireeta, n'abalaga ebyobugagga bwe byonna mu nnyumba ye ey'eggwanika: ffeeza ne zaabu, n'ebyakaloosa, n'omuzigo ogw'omuwendo ennyo, n'ennyumba mw'atereka ebyokulwanyisa bye, na byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu lubiri lwe, wadde mu bwakabaka bwe bwonna ky'ataabalaga. Awo Yisaaya omulanzi n'ajja eri Kabaka Heezeekiya, n'amubuuza nti: “Abasajja bano bagambye ki, era bavudde wa okujja gy'oli?” Heezeekiya n'addamu nti: “Bava mu nsi ey'ewala, ey'e Babilooniya.” Era n'abuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Heezeekiya n'addamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye. Tewali kintu na kimu ku byobugagga bwange kye sibalaze.” Yisaaya n'agamba Heezeekiya nti: “Wulira Mukama ky'agamba: ‘Manya ng'ekiseera kijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo, n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa kati, bitwalibwe e Babilooniya. Tewaliba na kimu kirisigala. N'abamu ku b'ezzadde lyo abasibukira ddala mu ggwe, balitwalibwa ne balaayibwa okuweereza mu lubiri lwa kabaka wa Babilooniya.’ ” Awo Heezeekiya n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde, kirungi.” Kubanga yagamba nti: “Ate si kirungi, oba nga walibaawo emirembe n'obutebenkevu mu kiseera kyange?” N'ebirala byonna Heezeekiya bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, wamu n'ebyo ebinyumya nga bwe yasima ekidiba era n'omukutu, n'aleeta amazzi mu kibuga, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Awo Heezeekiya n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, mutabani we Manasse n'amusikira ku bwakabaka. Manasse yali wa myaka kkumi n'ebiri we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka amakumi ataano mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hefuziba. N'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'agoberera empisa embi ddala ez'ab'amawanga amalala Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka. Kubanga Manasse yazimba buggya ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu, Heezeekiya kitaawe bye yali azikirizza. N'ateerawo Baali zaalutaari, n'akola ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera, nga Ahabu kabaka wa Yisirayeli bwe yakola. N'asinza byonna ebyakira ku ggulu, n'aba muweereza waabyo. N'azimba zaalutaari mu Ssinzizo, Mukama lye yayogerako nti: “Mu Yerusaalemu mwe banansinzizanga.” Era n'azimbira ebyakira ku ggulu byonna zaalutaari mu mpya ebbiri ez'Essinzizo. Era n'ayokya mutabani we ng'ekiweebwayo ekyokebwa. Ne yeebuuzanga ku mmandwa ne ku basamize, n'akola eby'obulogo. N'akolagana n'abo abayita emizimu era n'abalogo. Ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera kye yakola, n'akiteeka mu Ssinzizo, Essinzizo Mukama lye yagamba Dawudi ne Solomooni mutabani we nti: “Mu Ssinzizo lino ne mu Yerusaalemu, ekibuga kye nneeroboza mu bibuga by'Ebika byonna ebya Yisirayeli, mwe baba bansinzizanga ennaku zonna. Era siriddamu kuggya Bayisirayeli mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe banassangayo omwoyo okukola byonna bye mbalagidde, n'okukuuma amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo bye nabawa nga mbiyisa mu Musa omuweereza wange.” Manasse n'awabya ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ne bakola ebibi okusinga n'ab'amawanga Mukama ge yazikiriza ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka mu nsi eyo. Awo Mukama ng'ayita mu baweereza be abalanzi, n'agamba nti: “Manasse kabaka wa Buyudaaya akoze ebyenyinyalwa ebyo, era akoze ebibi ebisinga byonna Abaamori abaamusooka bye baakola, n'aleetera n'ab'omu Buyudaaya okwonoona nga basinza ebifaananyi bye yateekawo. N'olwekyo nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, ŋŋamba nti: ‘Kale nja kuleeta akabi ku Yerusaalemu ne ku Buyudaaya, buli anaakawulirangako, amatu ge gawaawaalenga. Ndibonereza Yerusaalemu nga bwe nabonereza Samariya, era nga bwe nabonereza Ahabu kabaka wa Yisirayeli n'ab'ezzadde lye. Ndisaanyaawo abantu mu Yerusaalemu, ng'omuntu bw'asiimuula essowaani: bw'amala okugisiimuula, n'agivuunika. Ndyabulira abantu bange abaliwonawo, ne mbawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe babayigge ng'ensolo, babakwate era babafuule omunyago gwabwe. Ndikola ekyo, kubanga abantu bange bakoze bye sisiima, ne bansunguwaza okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe lwe baaviirako mu Misiri n'okutuusa kati.’ “N'ekirala, Manasse yatta abantu bangi nnyo, n'ajjuza Yerusaalemu omusaayi gw'abatalina musango. Okwo n'ayongerako ekibi kye eky'okuleetera ab'omu Buyudaaya okukola ebitasiimibwa Mukama.” N'ebirala byonna Manasse bye yakola omuli n'okwonoona kwe, kwe yayonoonamu, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Manasse n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu nnimiro y'omu lubiri, ennimiro ya Wuzza, mutabani we Amoni n'amusikira ku bwakabaka. Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Mesullemeti, muwala wa Haruuzi, ow'e Yotiba. N'akola ebitasiimibwa Mukama, nga Manasse kitaawe bye yakola. N'agoberera empisa za kitaawe: n'asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga, n'abivuunamiranga. Ne yeggya ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n'atakwata biragiro bya Mukama. Abakungu be ne bamukolera olukwe, ne bamutemulira mu lubiri lwe. Kyokka abantu ab'omu nsi eyo ne batta bonna abaakolera Kabaka Amoni olukwe, ne bateekako mutabani we Yosiya okumusikira ku bwakabaka. N'ebirala byonna Amoni bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Amoni n'aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Wuzza, mutabani we Yosiya n'amusikira ku bwakabaka. Yosiya yali wa myaka munaana we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Yedida, muwala wa Adaya ow'e Bozukati. Yosiya n'akolanga ebyo Mukama by'asiima n'aba n'empisa ng'eza Dawudi jjajjaawe, n'atakyukakyuka kudda eno n'eri. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Yosiya, kabaka oyo Yosiya n'atuma omuwandiisi we Saafani, mutabani wa Azaliya era muzzukulu wa Mesullamu, agende mu Ssinzizo, ng'amulagidde nti: “Genda eri Ssaabakabona Hilukiya, omugambe abale ensimbi ezireeteddwa mu Ssinzizo, abagguzi ze baakasolooza ku bantu. Baziwe abasajja abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo, basasule ababazzi n'abazimbi, n'abakomozi b'amayinja, era bagule embaawo n'amayinja amakomole okuddaabiriza Essinzizo. Naye ensimbi ezibakwasiddwa, tekyetaagisa kuzibalirira muwendo, kubanga bakola na bwesigwa.” Awo Hilukiya Ssaabakabona n'agamba Saafani omuwandiisi nti: “Nzudde Ekitabo ky'Amateeka mu Ssinzizo.” Awo n'akiwa Saafani n'akisoma. Saafani omuwandiisi n'addayo eri kabaka, n'amutegeeza nti: “Abaweereza bo baggyeeyo ensimbi zonna ezisangiddwa mu Ssinzizo ne bazikwasa abasajja abakola omulimu ogw'okuddaabiriza.” Awo Saafani omuwandiisi n'agamba kabaka nti: “Hilukiya kabona ampadde ekitabo.” N'akisomeramu kabaka. Awo kabaka bwe yawulira ebigambo eby'omu Kitabo ky'Amateeka, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala. N'alagira Hilukiya kabona, ne Ahikaamu mutabani wa Saafani, ne Akuboori mutabani wa Mikaaya, ne Saafani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka ow'oku lusegere, ng'abagamba nti: “Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abantu bonna ab'omu Buyudaaya, ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaagondera bigambo biri mu kitabo kino, byonna ebyatuwandiikirwa tubikole.” Awo Hilukiya kabona ne Ahikaamu ne Akuboori ne Saafani ne Asaya ne bagenda eri Huluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tikuva, era muzzukulu wa Harukasi, omukuumi w'etterekero ly'ebyambalo. Omukazi oyo yabeeranga mu kitundu ekipya ekya Yerusaalemu. Ne boogera naye ku nsonga eyo. N'abagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Omuntu abatumye gye ndi mumugambe nti: Mukama agamba nti: Akabi konna akoogerwako mu kitabo kino kabaka wa Buyudaaya ky'asomye, nja kukatuusa ku kifo kino, ne ku bakibeeramu. Nga bwe banvuddeko, ne bootereza balubaale obubaane, ne bansunguwaza n'ebyo byonna bye bakoze, obusungu bwange kyebuliva bukoleera ku kifo kino, era tebulizikira. Era kabaka wa Buyudaaya, abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti: Nze Mukama Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti: ku bigambo by'owulidde, omutima gwo nga bwe gubadde omugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo olw'okunakuwala, era n'okaaba amaziga bw'owulidde ebigambo bye nayogera ku kifo kino ne ku abo abalikibeeramu, nga balizikirira ne bajulirwa mu kukolima, kale nkuwulidde. Ndikutwala eri bajjajjaabo n'oziikibwa mirembe, era toliraba ku kabi ke ndituusa ku kifo kino.’ ” Ne baddayo, ne babuulira kabaka ebigambo ebyo. Awo Kabaka Yosiya n'atumya abakulembeze bonna aba Buyudaaya n'aba Yerusaalemu, ne bakuŋŋaanira w'ali. N'agenda nabo mu Ssinzizo, awamu n'abasajja bonna ab'omu Buyudaaya, ne bonna ababeera mu Yerusaalemu, ne bakabona, n'abalanzi, n'abantu abalala bonna abakulu n'abato. N'asoma nga bawulira ebigambo by'omu Kitabo eky'Endagaano ekyazuulibwa mu Ssinzizo. Kabaka n'ayimirira kumpi n'empagi, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, okumuwuliranga n'okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, ne bye yakuutira, n'alagaanya nti anaabikwatanga n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, era anaatuukirizanga ebigambo by'endagaano eyo, nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ekyo. Abantu bonna ne bayimirira okukakasa nga banaakuumanga endagaano eyo. Awo Kabaka Yosiya n'alagira Hilukiya Ssaabakabona, ne bakabona abamuddirira, n'abaggazi b'e Ssinzizo, okufulumya mu Ssinzizo ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kusinza Baali ne lubaale omukazi Asera, ne mu kusinza ebyakira ku ggulu byonna. Kabaka n'abyokera ebweru wa Yerusaalemu, mu ttale ly'omu Kiwonvu Kidurooni, evvu lyabyo ne litwalibwa e Beteli. N'aggyawo bakabona abasinza ebitali Katonda, bakabaka ba Buyudaaya abaamusooka be baateekawo okunyookezanga obubaane ku bifo ebigulumivu bye basinzizaamu, ebyali mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemu, era n'abo abaanyookezanga obubaane eri Baali, n'enjuba, n'omwezi, n'emmunyeenye, n'ebirala byonna ebiri ku ggulu. N'aggya ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera mu Ssinzizo, n'akitwala ebweru wa Yerusaalemu, ku Kagga Kidurooni, n'akyokerayo, n'akisekulasekula, n'akifuula olusennyente, n'amansa olusennyente olwo mu kifo ekiziikibwamu abafu ekyalukale. N'amenyerawo ddala ebisulo by'abasajja abaakolanga eby'obukaba ku basajja bannaabwe. Ebisulo ebyo byali mu Ssinzizo, era mu byo abakazi mwe baalukiranga ebitimbirwa lubaale omukazi Asera. N'aleeta mu Yerusaalemu bakabona bonna abaali mu bibuga bya Buyudaaya, n'ayonoona mu ggwanga lyonna ebifo byonna ebigulumivu bye baasinzizangamu, era bakabona mwe baanyookerezanga obubaane mu ggwanga lyonna, okuva e Geba okutuuka e Beruseba. Era n'azikiriza ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu ebyali okumpi n'awayingirirwa mu Mulyango gwa Yoswa, omukulu w'ekibuga ekyali ku mukono ogwa kkono omuntu ng'ayingira mu Wankaaki w'Ekibuga Yerusaalemu. Kyokka bakabona abo abaakoleranga mu bifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, ne batakkirizibwa kuweereza mu Ssinzizo mu Yerusaalemu, naye baayinzanga okulya ku migaati egitazimbulukusiddwa egiweereddwa bakabona bannaabwe. Kabaka Yosiya era n'ayonoona Tofeti, ekifo mu Kiwonvu ky'Abahinnomu, walemenga kubaawo n'omu ayokerayo mutabani we oba muwala we okuba ekiweebwayo eri Lubaale Moleki, ekyokebwa nga kiramba. N'aggyawo embalaasi, bakabaka ba Buyudaaya abaamusooka ze baali bawongedde enjuba, n'ayokya amagaali gaayo agaali mu luggya okumpi n'awayingirirwa mu Ssinzizo okuliraana n'ekisenge kya Natani-Meleki omulaawe. Zaalutaari bakabaka ba Buyudaaya ze baali bakoze waggulu wa kalinaabiri ya Ahazi, Kabaka Yosiya n'azimenyawo awamu ne zaalutaari ezaazimbibwa Kabaka Manasse mu mpya zombi ez'Essinzizo. N'azikoonakoona, n'azimenyaamenya, ebitundutundu byazo n'abisuula mu Kagga Kidurooni. Kabaka Yosiya n'ajaajaamya n'ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu ebyolekera Yerusaalemu ebyali obukiikaddyo obw'olusozi olw'Obwonoonefu, Solomooni kabaka wa Yisirayeli bye yazimbira ebifaananyi ebyenyinyalwa: ekya Asera, lubaale omukazi ow'Abasidoni, ekya Kemosi, lubaale wa Mowaabu, n'ekya Milukomu, lubaale owa Ammoni eyeenyinyalwa. N'ayasaayasa empagi ez'amayinja, n'atemaatema n'ebifaananyi bya Asera, ebifo byabyo n'abijjuzaamu amagumba g'abafu. Kabaka Yosiya n'amenyawo ne alutaari eyali e Beteli era n'ekifo ekigulumivu kye baasinzizangamu ekyazimbibwa Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, eyaleetera Yisirayeli okwonoona. Yosiya n'amenyawo alutaari eyo era n'ekifo ekyo ekigulumivu kye baasinzizangamu, n'abyokya, n'abisambirira, n'abifuula olusennyente, n'ayokya n'ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera. Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n'alaba amalaalo agaali awo ku lusozi, n'alagira ne baggyamu amagumba n'agookera ku alutaari n'agyonoona nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu mulanzi we, eyalanga ebiribaawo mu kifo ekyo. Awo kabaka n'abuuza nti: “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abantu ab'omu kibuga ekyo ne bamubuulira nti: “Ago ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya, n'alanga ebintu ebyo by'okoze ku alutaari eno ey'e Beteli.” Kabaka Yosiya n'alagira nti “Oyo mumuleke, amagumba ge waleme kubaawo agasimulayo.” Ne baleka amagumba ge, era n'amagumba g'omulanzi eyava e Samariya. Amasabo gonna ag'omu bifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samariya, bassekabaka ba Yisirayeli ge baali bazimbye ne basunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo, n'agakolako byonna nga bye yakola e Beteli. Bakabona bonna abaakoleranga mu bifo ebigulumivu abantu bye baasinzizangamu, n'abattira ku zaalutaari, era zaalutaari ezo n'azookerako amagumba g'abafu, n'alyoka addayo e Yerusaalemu. Awo Kabaka Yosiya n'alagira abantu nti: “Mukolere Mukama, Katonda wammwe, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga bwe kyawandiikibwa mu Kitabo eky'Endagaano.” Okuviira ddala ku mirembe gy'Abalamuzi abaafuga Yisirayeli, waali tewabangawo Mbaga Ejjuukirirwako Kuyitako yenkana awo, newaakubadde mu mirembe gya bassekabaka ba Yisirayeli, wadde mu gya bassekabaka ba Buyudaaya. Naye mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana nga Yosiya ye Kabaka, Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako n'ekolerwa Mukama mu Yerusaalemu. Yosiya era n'aggyawo mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna, abasamize, n'abalogo, ne balubaale ab'omu maka, n'ebifaananyi abantu bye basinza, n'ebintu ebirala byonna ebyenyinyalwa, alyoke anyweze eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo, Hilukiya kabona kye yazuula mu Ssinzizo. Yosiya oyo, mu bakabaka bonna abaamukulembera, tewali n'omu eyamwenkana mu kukyukira Mukama n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna, ng'atuukiriza ebiri mu Mateeka ga Musa gonna, era ne mu baamuddirira tewali yasinga ye. Kyokka era Mukama n'atalekaayo kusunguwalira nnyo Buyudaaya olw'ebyo Manasse bye yakola okumusunguwaza. Mukama n'agamba nti: “Ndiggyawo Buyudaaya mu maaso gange, nga bwe naggyawo Yisirayeli. Ndiboola ekibuga kino Yerusaalemu kye neeroboza, era n'Essinzizo lye nayogerako nti mwe banansinzizanga.” N'ebirala byonna Kabaka Yosiya bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya bassekabaka ba Buyudaaya. Mu mirembe gye, Faraawo Neeko Kabaka w'e Misiri n'ajja n'eggye okuyamba kabaka wa Assiriya ku Mugga Ewufuraate. Kabaka Yosiya n'agenda okumulwanyisa. Neeko bwe yalaba Yosiya, n'amuttira e Megiddo. Abaweereza be ne bamuteeka mu ggaali ng'afudde, ne bamuggya e Megiddo, ne bamutwala e Yerusaalemu, ne bamuziika mu ntaana ye. Abantu b'omu Buyudaaya ne balonda Yehoyahaazi mutabani we, ne bamufukako omuzigo, ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe. Yehoyahaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu we yafuukira kabaka, n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hamutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. N'akola ebitasiimibwa Mukama nga bajjajjaabe bye baakola. Neeko kabaka w'e Misiri n'amusibira e Ribula mu nsi ya Hamati, aleme okufuga mu Yerusaalemu. N'asalira Buyudaaya omusolo gwa talanta kikumi eza ffeeza ne talanta emu eya zaabu. Kabaka Neeko oyo n'alonda Eliyakimu mutabani wa Yosiya n'amufuula kabaka mu kifo kya Yosiya kitaawe, n'akyusa erinnya lya Eliyakimu, n'amutuuma Yehoyakiimu. Neeko n'atwala Yehoyahaazi e Misiri, Yehoyahaazi n'afiira eyo. Kabaka Yehoyakiimu n'asolooza ffeeza ne zaabu ku bantu b'omu nsi ye okusinziira ku nfuna yaabwe, alyoke aweze omuwendo gw'ensimbi ez'omusolo kabaka w'e Misiri gwe yamulagira okusasula. Yehoyakiimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, n'afugira mu Yerusaalemu emyaka kkumi na gumu. Nnyina yali Zebida, muwala wa Pedaaya ow'e Ruuma. Yehoyakiimu n'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'ebyo byonna bajjajjaabe bye baakola. Yehoyakiimu bwe yali nga ye kabaka, Nebukadunezzari Kabaka wa Babilooniya n'alumba Buyudaaya, Yehoyakiimu n'afuuka omuweereza we okumala emyaka esatu, oluvannyuma n'amwefuulira, n'amujeemera. Awo Mukama n'asindika ebibinja by'Abakaludaaya, n'eby'Abassiriya, n'eby'Abammoni okulumba Yehoyakiimu, bizikirize Buyudaaya, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu baweereza be abalanzi. Ddala Mukama ye yalagira kibe bwe kityo, okuggyawo abantu b'omu Buyudaaya mu maaso ge, olw'ebibi byonna Kabaka Manasse bye yakola, naddala olw'abantu abataliiko musango Manasse oyo be yatta, kubanga yajjuza Yerusaalemu omusaayi gw'abantu be yattira obwereere. Mukama n'asalawo obutasonyiwa Manasse olw'ekyo. N'ebirala byonna Yehoyakiimu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Awo Yehoyakiimu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, Yehoyakiini mutabani we n'amusikira ku bwakabaka. Kabaka wa Misiri teyaddamu kuva mu nsi ye kujja kulumba, kubanga Kabaka w'e Babilooniya yali yeefuze ekitundu kyonna ekyabanga ekya kabaka w'e Misiri, okuva ku Kagga k'e Misiri, okutuuka ku Mugga Ewufuraate. Yehoyakiini yali wa myaka kkumi na munaana we yafuukira kabaka, n'afugira mu Yerusaalemu emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nehusita, muwala wa Elunatani ow'e Yerusaalemu. N'akola ebitasiimibwa Mukama ng'ebya bajjajjaabe byonna bye baakolanga. Mu biseera ebyo, eggye lya Nebukadunezzari kabaka w'e Babilooniya ne lijja e Yerusaalemu, ne likizingiza. Ne Nebukadunezzari kennyini n'ajja e Yerusaalemu, eggye lye nga likizingizizza. Yehoyakiini kabaka wa Buyudaaya, ng'ali wamu ne nnyina, n'abaweereza be, n'abakungu be, n'abaami be, n'avaayo, ne yeewaayo mu mikono gya Kabaka w'e Babilooniya. Nebukadunezzari mu mwaka ogw'omunaana nga ye kabaka, n'akwata Yehoyakiini n'amusiba. Ebyobugagga byonna eby'omu Ssinzizo, n'eby'omu lubiri lwa kabaka, n'abiggyamu, n'abitwala. Era nga Mukama bwe yagamba, Nebukadunezzari n'amenyaamenya ebintu byonna ebya zaabu, Solomooni kabaka wa Yisirayeli bye yali atadde mu Ssinzizo. Nebukadunezzari n'atwala abantu b'omu Yerusaalemu nga basibe: abakungu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe omutwalo gumu bonna awamu, omwali abaweesi, n'abakugu bonna mu mirimu egitali gimu. Tewali baasigalayo mu Buyudaaya, okuggyako abo abaali abaavu lunkupe. Kabaka w'e Babilooniya n'atwala Yehoyakiini e Babilooni wamu ne nnyina, ne bakazi be, n'abakungu be, n'abantu abatutumufu mu Buyudaaya. N'abaggya e Yerusaalemu, n'abatwala e Babilooni nga basibe. Abasajja bonna ab'amaanyi abazira baali kasanvu. Abakugu mu kukola emirimu, omwali n'abaweesi, baali lukumi. Bonna abo baali bazira abasobola okulwana mu lutalo, n'abatwala e Babilooniya nga basibe. Awo kabaka w'e Babilooniya n'alonda Mattaniya, kitaawe omuto owa Yehoyakiini, n'amufuula kabaka mu kifo kya Yehoyakiini, n'akyusa erinnya lye, n'amutuuma Zeddeekiya. Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hamutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. Kabaka Zeddeekiya n'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'ebyo byonna Yehoyakiimu bye yakola. Mukama n'asunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya, n'abagoba mu maaso ge. Zeddeekiya n'ajeemera kabaka w'e Babilooniya. Ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogw'ekkumi mu mwaka ogw'omwenda bukya Zeddeekiya afuuka kabaka, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'ajja n'eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemu, n'asiisira okukyetooloola, ne bakizimbako ekigo enjuyi zonna, ne kizingizibwa okutuusa mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu bukya Zeddeekiya afuuka kabaka. Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna, enjala n'enyiikira mu kibuga, abantu nga tebakyalina kye balya. Ne bakuba ekituli mu kigo ky'ekibuga. Abasajja bonna abaserikale ne babomba ekiro, newaakubadde ng'Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Ne bakwata ekkubo eriyita ku nnimiro ya kabaka, ne bayita mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, Kabaka n'agenda nabo ng'ayolekedde Ekiwonvu kya Yorudaani. Naye ab'eggye ly'Abakaludaaya ne bawondera Kabaka Zeddeekiya, ne bamutuukako mu nsenyi z'e Yeriko, eggye lye lyonna ne lisaasaana, ne limwabulira. Ne bamuwamba ne bamutwala eri kabaka wa Babilooniya e Ribula, ne bamusalira omusango okumusinga. Ne batta batabani ba Zeddeekiya mu maaso ge ng'alaba. Ne bamuggyamu amaaso, ne bamusiba mu njegere, ne bamutwala e Babilooni. Ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi ogw'omwenda mu mwaka ogw'ekkumi n'omwenda bukya Nebukadunezzari afuuka kabaka wa Babilooniya, Nebuzaradaani, omukungu omukulu w'abakuumi ba Kabaka wa Babilooniya, n'ajja e Yerusaalemu. N'ayokya Essinzizo, n'olubiri lwa Kabaka, n'ebizimbe byonna ebinene eby'omu Yerusaalemu. N'eggye lye ery'Abakaludaaya ne limenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu enjuyi zonna. Abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n'abo abaali beewaddeyo ne badda ku ludda lwa kabaka wa Babilooniya awamu n'abalala bonna, Nebuzaradaani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'abatwala e Babilooni nga basibe. Kyokka n'aleka mu Buyudaaya abaavu lunkupe, okulimanga n'okulabiriranga ennimiro z'emizabbibu. Abakaludaaya ne bamenyaamenya n'empagi ez'ebikomo ezaali mu Ssinzizo, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, n'ogutanka ogunene, eby'ekikomo, ne balyoka batwala ekikomo kyabyo e Babilooni. Ne batwala n'ekitamu, n'ebiyoola evvu, ne makansi ezisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebijiiko n'ebintu ebirala byonna eby'ekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Ssinzizo. Na buli kintu ekyakolebwa mu zaabu oba mu ffeeza, omuli n'ebyoterezo n'ebbakuli, Nebuzaradaani n'akitwala. Empagi zombi, ogutanka ogunene, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, Solomooni bye yakolera Essinzizo lya Mukama, obuzito bw'ekikomo kyabyo tebwapimibwa. Empagi emu yali ya mita munaana obugulumivu, ng'eriko omutwe ogw'ekikomo, obugulumivu bwagwo, mita emu n'obutundu busatu. Era yaliko ebifaananyi by'emikuufu n'eby'amakomamawanga, nga biri ku mutwe okwetooloola, nga byonna byakikomo. N'empagi eyookubiri nayo yali ekoleddwa mu ngeri ye emu. Nebuzaradaani era n'akwata Seraya Ssaabakabona, ne Zefaniya kabona amuddirira, n'abaggazi b'Essinzizo abasatu. Ne mu kibuga, n'aggyamu omukungu eyali akulira ab'amagye, n'abasajja bataano ku abo abaatuukiriranga kabaka okumuwa amagezi abaali bakyali mu kibuga, n'omuwandiisi omukulu, eyawandiikanga abaserikale mu ggye mu ggwanga, n'abasajja nkaaga ku bantu abatutumufu mu ggwanga, abaali bakyali mu kibuga. Nebuzaradaani n'abatwala eri kabaka wa Babilooniya, e Ribula, mu nsi y'e Hamati. Kabaka oyo n'abakuba n'abattira eyo. Bwe batyo Abayudaaya bwe baggyibwa mu nsi yaabwe nga basibe, ne bawaŋŋangusibwa. Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'ateekawo Gedaliya, mutabani wa Ahikaamu, era muzzukulu wa Safani, okuba omufuzi w'abantu abaasigala mu Buyudaaya, kabaka oyo be yalekamu. Abakulu bonna mu magye ga Buyudaaya ne basajja baabwe abaali bateewaddeeyo, bwe baawulira nga kabaka wa Babilooniya awadde Gedaliya obufuzi, ne bajja eri Gedaliya oyo e Mizupa. Abajja be bano: Yisimayeli mutabani wa Netaniya, ne Yohanaani, mutabani wa Kareya, ne Seraya, mutabani wa Tanuhumeti, ow'e Netofa, ne Yaazaniya mutabani w'omusajja ow'e Maaka. Gedaliya n'abalayirira, bo ne basajja baabwe, n'abagamba nti: “Temutya bakungu Abakaludaaya. Musigale mu nsi eno, muweereze kabaka wa Babilooniya, mujja kuba bulungi.” Kyokka mu mwezi ogw'omusanvu Yisimayeli mutabani wa Netaniya era muzzukulu wa Elisaama ow'olulyo olulangira n'ajja wamu n'abasajja kkumi e Mizupa, ne batta Gedaliya. Ne batta n'Abayudaaya n'Abakaludaaya abaali naye eyo. Awo abantu bonna, abato n'abakulu, n'abakulu mu magye ne beesitula ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya. Evilumerodaaki mu mwaka mwe yafuukira kabaka wa Babilooniya, n'akwatirwa Kabaka Yehoyakiini owa Buyudaaya ekisa, n'amuggya mu kkomera, ku lunaku olw'amakumi abiri mu omusanvu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu, okuva Yehoyakiini kabaka wa Buyudaaya lwe yasibibwa. Evilumerodaaki n'amuyisa bulungi, n'amusukkulumya ku bakabaka abalala abaali naye mu buwaŋŋanguse mu Babilooni. Yehoyakiini n'aggyibwa mu byambalo by'ekkomera, era okuva olwo n'aliiranga ku lujjuliro lwa Kabaka obulamu bwe bwonna. Kabaka n'alagira bamuwenga omugabo ogwa buli lunaku, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu. Adamu yazaala Seeti, Seeti n'azaala Enosi, Enosi n'azaala, Kenani, Kenani n'azaala Mahalaleeli, Mahalaleeli n'azaala Yaredi, Yaredi n'azaala Enoka, Enoka n'azaala Metuseela, Metuseela n'azaala Lameka, Lameka n'azaala Noowa, Noowa n'azaala Seemu, Haamu, ne Yafeeti. Batabani ba Yafeeti: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi. Batabani ba Gomeri: Asukenaazi, ne Difati, ne Togaruma. Batabani ba Yavani: Elisa, ne Tarusiisi, Kittimu, ne Rodaniimu. Batabani ba Haamu: Kuusi ne Mizurayimu, Puuti ne Kanaani. Batabani ba Kuusi: Seba, ne Havila, ne Sabuta, ne Raama, ne Sabuteka. Batabani ba Raama: Seeba ne Dedani. Kuusi yazaala Nimuroodi, eyasooka okuba omuntu omulwanyi ow'amaanyi ku nsi. Mizurayimu yazaala Ludiimu, ne Anamiimu, ne Lehabiimu, Nafutuhiimu, ne Paturusiimu, ne Kasuluhiimu eyasibukamu Abafilistiya, ne Kafutorimu. Kanaani yazaala Sidoni, omuggulanda we, ne Heeti, n'Abayebusi, n'Abaamori, n'Abagirugaasi, n'Abahiivi, n'Abaruki, n'Abasiini, n'Abaruvaadi, n'Abazemari, n'Abahamati. Batabani ba Seemu: Elamu, ne Assuri, ne Arupakusaadi, ne Luudi, ne Aramu, ne Wuuzi, ne Huuli, ne Geteri, ne Meseki. Arupakusaadi yazaala Seela, Seela n'azaala Eberi. Eberi yazaala abatabani babiri: erinnya ly'omu Pelegi, kubanga mu kiseera kye, ensi we yagabanyizibwamu, n'erinnya lya muganda we Yokutaani. Yokutaani yazaala Alumodaadi, ne Selefu, ne Hazurumaveti, ne Yeera, ne Hadoraamu, ne Wuuzali, ne Dikula, ne Ebali, ne Abimayeli, ne Seeba, ne Ofiri, ne Havila ne Yobabu. Abo bonna baali batabani ba Yokutaani. Obuzaale bwa Aburahamu okuva ku Seemu: Seemu yazaala Arupakusaadi, Arupakusaadi n'azaala Seera, Seera n'azaala Eberi, Eberi n'azaala Pelegi, Pelegi n'azaala Rewu, Rewu n'azaala Serugi, Serugi n'azaala Nahori, Nahori n'azaala Teera, Teera n'azaala Aburaamu, ye Aburahamu. Batabani ba Aburahamu: Yisaaka ne Yisimayeli. Bano be batabani ba Yisimayeli: Nebayooti omuggulanda we, addibwako Kedari, ne Adubeeli, ne Mibusaamu, Misuma, ne Duma, Massa, Hadadi, ne Teema, Yeturi, Nafisi, ne Kedema. Abo be baana ba Yisimayeli. Batabani ba Aburahamu be yazaala mu Ketura, mukazi we omulala: Ketura yazaala Zimurani, ne Yokusaani, ne Medaani, ne Midiyaani, ne Yisubaaki, ne Suuwa. Batabani ba Yakusaani: Seeba ne Dedani. Batabani ba Midiyaani: Efa, ne Eferi, ne Hanoki, ne Abiida, ne Eluda. Abo bonna baali ba zzadde lya Ketura. Aburahamu yazaala Yisaaka. Batabani ba Yisaaka: Esawu ne Yisirayeli. Batabani ba Esawu: Elifaazi, Reweli, Yewusi, Yalaamu, ne Koora. Batabani ba Elifaazi: Temani, ne Omari, Zefi, ne Gatamu, Kenazi, ne Timuna, ne Amaleki. Batabani ba Reweli: Nahati, Zera, Samma ne Mizza. Batabani ba Seyiri: Lotani, ne Sobali, ne Zibiyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri, ne Disani. Batabani ba Lotani: Hoori ne Homaamu. Timuna yali mwannyina Lotani. Batabani ba Sobali: Aluyaani ne Manahati, ne Ebali, Sefi, ne Onamu. Batabani ba Zibiyoni, Aya ne Ana. Mutabani wa Ana: Disoni. Batabani ba Disoni: Hamuraani, ne Esubaani, ne Yituraani, ne Kerani. Batabani ba Ezeri: Bilihaani ne Zaavani ne Yaakani. Batabani ba Disani: Wuuzi ne Araani. Bano be bakabaka abaagenda baddiriŋŋana okufuga mu nsi ya Edomu, nga tewannaba kabaka n'omu afuga Bayisirayeli: Bela mutabani wa Bewori, erinnya ly'ekibuga kye lyali Dinuhaba. Bela bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zera ow'e Bozira n'afuga mu kifo kye. Yobabu bwe yafa, Husamu eyava mu nsi y'Abatemani n'afuga mu kifo kye. Husamu bwe yafa, Hadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Abamidiyaani mu lutalo olwali mu nsi y'e Mowaabu, n'afuga mu kifo kye. Erinnya ly'ekibuga kye lyali Aviti. Hadadi bwe yafa, Samula ow'e Masireeka n'afuga mu kifo kye. Samula bwe yafa, Sawuuli ow'e Rehoboti eky'oku Mugga, n'afuga mu kifo kye. Sawuuli bwe yafa, Baalihanani mutabani wa Akuboori n'afuga mu kifo kye. Baalihanani bwe yafa, Hadadi ow'e Paayi, n'afuga mu kifo kye. Muka Hadadi yali Mehetabeli, muwala wa Makireedi era muzzukulu wa Mezahaabu. Hadadi bwe yafa, ensi y'e Edomu n'efugibwa abakungu bano: Timuna, Aliya, Yeteti, Oholibama, Ela, Pinoni, Kenazi, Temani, Mibuzaari, Magudiyeeli, Yiramu. Abo be bakungu ba Edomu. Bano be batabani ba Yisirayeli: Rewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda, Yissakaari ne Zebbulooni, Daani, Yosefu ne Benyamiini. Nafutaali, Gaadi, ne Aseri. Batabani ba Yuda: Eri, ne Onani ne Seela. Abasatu abo nnyaabwe yali Suuwa Omukanaani. Omuggulanda we Eri, yali muntu mubi. Mukama n'amutta. Batabani ba Yuda abalala be bano: Pereezi ne Zera. Abo yabazaala mu Tamari, mukaamwana we. Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano. Batabani ba Pereezi: Hezirooni ne Hamuli. Batabani ba Zera be bano: Zimuri ne Etani, ne Heemaani, ne Kalukoli, ne Daara, bonna bataano. Mutabani wa Karumi yali Akaari, eyaleetera Abayisirayeli omutawaana bwe yasobya ebintu ebyali biwongeddwa Katonda. Mutabani wa Etani: Azariya. Batabani ba Hezirooni be bano: Yerameeli, Raamu, ne Kelubaayi. Raamu yazaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Nahusooni, omukulembeze w'ab'Ekika kya Yuda. Nahusooni yazaala Saluma; Saluma n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi; Obedi n'azaala Yesse. Yesse yazaala abaana ab'obulenzi musanvu: Eliyaabu ye muggulanda, Abinadabu ye wookubiri, Simeeya ye wookusatu, Netaneeli ye wookuna, Raddayi ye wookutaano, Ozemu ye w'omukaaga, Dawudi ye w'omusanvu, ne bannyinaabwe: Zeruyiya ne Abigayili. Zeruyiya yazaala abalenzi basatu: Abisaayi, Yowaabu, ne Asaheeli. Abigayili yazaala Amasa. Kitaawe wa Amasa yali Yeteri Omuyisimayeli. Kalebu mutabani wa Hezirooni yazaala omuwala Yeriyooti, mu mukazi we Azuba. Era bano be balenzi Azuba be yazaala: Yeeseri, Sobabu, ne Arudooni. Azuba bwe yafa, Kalebu n'awasa Efuraati eyamuzaalira Huuri, Huuri n'azaala Wuuri, ate Wuuri n'azaala Bezaleeli. Hezirooni bwe yaweza emyaka nkaaga, n'awasa muwala wa Makiri kitaawe wa Gileyaadi. Ne bazaala Segubu, Segubu n'azaala Yayiiri eyali nnannyini bibuga amakumi abiri mu bisatu mu kitundu ky'e Gileyaadi. Obwakabaka bw'e Gesuri ne Araamu ne bubanyagako Ebibuga bya Yayiiri, ne Kenaati, n'ebyalo ebikyetoolodde, byonna awamu ebibuga nkaaga. Abo bonna abaali eyo be basibuka mu Makiri, kitaawe wa Gileyaadi. Awo Hezirooni ng'amaze okufiira mu Kalebu-Efuraati, nnamwandu we Abiya n'amuzaalira Asuhuuri kitaawe wa Tekowa. Batabani ba Yerameeli omuggulanda wa Hezirooni be bano: Raamu omuggulanda, ne Buuna, ne Oreri, ne Ozemu, ne Ahiya. Yerameeli yalina omukazi omulala, erinnya lye Ataara. Oyo ye yali nnyina Onamu. Batabani ba Raamu, omuggulanda wa Yerameeli: Maagi, ne Yamuni, ne Ekeri. Batabani ba Onamu baali Sammayi ne Yaada. Batabani ba Sammayi: Nadaaba ne Abisuuri. Muka Abisuuri erinnya lye Abihayili, yamuzaalira Abani ne Molidi. Ne batabani ba Nadabu: Seledi ne Appayiimu. Kyokka Seledi yafa tazadde baana. Mutabani wa Appayiimu yali Yiisi, ate mutabani wa Yiisi yali Sesani, ne mutabani wa Sesani yali Alayi. Batabani ba Yaada muganda wa Sammayi: Yeteri, ne Yonataani. Yeteri yafa tazadde baana. Batabani ba Yonataani: Peleti ne Zaaza. Abo be basibuka mu Yerameeli. Sesani teyazaala baana ba bulenzi wabula ba buwala bokka. Sesani oyo yalina omuddu Omumisiri erinnya lye Yara. Sesani n'addira muwala we n'amuwa Yara omuddu we amuwase, omuwala oyo n'amuzaalira Attayi. Attayi n'azaala Natani, Natani n'azaala Zabadi, Zabadi n'azaala Efulaali, Efulaali n'azaala Obedi. Obedi n'azaala Yeehu, Yeehu n'azaala Azariya, Azariya n'azaala Helezi, Helezi n'azaala Eleyaasa, Eleyaasa n'azaala Sisumaayi, Sisumaayi n'azaala Sallumu, Sallumu n'azaala Yekamiya, Yekamiya n'azaala Elisaama. Batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeli be bano: Meesa omuggulanda we, eyazaala Ziifu, Ziifu n'azaala Maresa, Maresa n'azaala Heburooni. Batabani ba Heburooni: Koora, ne Tappuwa, ne Rekemu, ne Sema. Sema yazaala Rehamu kitaawe wa Yorukeyamu, ate Rekemu n'azaala Sammayi. Mutabani wa Sammayi yali Mawoni. Mawoni oyo ye kitaawe wa Betizuuri. Kalebu yalina omukazi omulala, erinnya lye Efa, eyazaala Harani ne Moza ne Gazeezi, Harani n'azaala Gazeezi. Batabani ba Yahudaayi baali Regemu ne Yotamu, ne Gesani, ne Peleti, ne Efa, ne Saafu. Maaka omukazi omulala owa Kalebu, n'azaala Seberi ne Tiruhaana. Era yazaala ne Saafu kitaawe wa Madimenna, n'azaala ne Seva kitaawe wa Makubeena era kitaawe wa Gibeya. Muwala wa Kalebu yali Akusa. Bano era be batabani ba Kalebu: Huuri ye muggulanda we mu mukazi we Efuraati. Huuri yazaala Sobali kitaawe wa Kiriyati Yeyariimu. Saluma mutabani we owookubiri ye kitaawe wa Betilehemu. Hareefu mutabani we owookusatu ye kitaawe wa Betigadeeri. Sobali kitaawe wa Kiriyati Yeyariimu ye jjajja wa Harowe, asibukamu ekimu ekyokubiri eky'Abamenuhoti. Ebika by'Abakiriyaatiyeyariimu byali: Abayituri, n'Abapuuti, n'Abasumati, n'Abamisuraayi. Mu abo mwe mwava Abazorati, n'Abesutawooli. Batabani ba Saluma: Betilehemu n'Abanetafa, Atarooti-Beeti-Yowaabu, n'ekimu ekyokubiri eky'Abamanahuti, be Bazaruti. Ebika by'abawandiisi abaabeeranga e Yabezi: Abatiruwaati, Abasimeyaati, n'Abasukati. Abo be Bakenimu abaava e Hemati era be bavaamu ab'oluggya lwa Rehabu. Bano be baana ba Dawudi be yazaala ng'ali e Heburooni: Amunooni omuggulanda, nnyina ye Ahinowamu Omuyezireeli; owookubiri Daniyeli, nnyina ye Abigayili Omukarumeeli; owookusatu Abusaalomu, nnyina ye Maaka muwala wa Kabaka Talumayi ow'e Gesuri; owookuna Adoniya, nnyina ye Haggiiti; owookutaano Sefatiya, nnyina ye Abitaali; ow'omukaaga Yitireyaamu, nnyina ye Egula. Abo omukaaga yabazaala ali Heburooni. N'afugira eyo emyaka musanvu n'emyezi mukaaga. Yafugira mu Yerusaalemu emyaka amakumi asatu mu esatu. Bano be yazaalira e Yerusaalemu: Simeeya, Sobabu, Natani, ne Solomooni. Abana abo nnyaabwe yali Batisuwa muwala wa Ammiyeeli. N'abalala mwenda: Yibuha, Elisaama, Elifeleti, Nooga, Nefegi, Yafiya, Elisaama, Eliyaada, ne Elifeleti. Dawudi era yalina abaana ab'obulenzi mu bakazi abalala, era n'omwana ow'obuwala Tamari. Solomooni yazaala Rehobowaamu, Rehobowaamu n'azaala Abiya, Abiya n'azaala Asa, Asa n'azaala Yehosafaati, Yehosafaati n'azaala Yoraamu, Yoraamu n'azaala Ahaaziya, Ahaaziya n'azaala Yowaasi, Yowaasi n'azaala Amaziya, Amaziya n'azaala Azariya, Azariya n'azaala Yotamu, Yotamu n'azaala Ahazi, Ahazi n'azaala Heezeekiya, Heezeekiya n'azaala Manasse, Manasse n'azaala Amoni, Amoni n'azaala Yosiya. Batabani ba Yosiya: omuggulanda ye Yohanaani, owookubiri Yehoyakiimu, owookusatu Zeddeekiya, owookuna Sallumu. Batabani ba Yehoyakiimu: Yekoniya ne Zeddeekiya. Bano be batabani ba Yekoniya eyatwalibwa e Babilooni nga musibe: Seyalutiyeli, Malukiraamu, Pedaaya, Senazzari, Yekamiya, Hosaama ne Nedabiya. Batabani ba Pedaaya: Zerubabbeeli ne Simeeyi. Batabani ba Zerubabbeeli: Mesullamu, Hananiya, ne Selomiti mwannyinaabwe, n'abalala bataano: Hasuba, ne Oheli, ne Berekiya, ne Hasadiya, ne Yusabu Hesedi. Batabani ba Hananiya: Pelatiya ne Yesaaya. Yesaaya yazaala Refaaya, Refaaya n'azaala Arunaani, Arunaani n'azaala Obadiya, Obadiya n'azaala Sekaniya. Sekaniya yasibukamu abaana ab'obulenzi mukaaga: mutabani we Semaaya, ne batabani ba Semaaya oyo: Hattusi ne Yiguyaali, ne Baariya, ne Neyariya, ne Saafati. Batabani ba Neyariya baali basatu: Eliyowenayi, ne Heezeekiya, ne Azirikaamu. Batabani ba Eliyowenayi baali musanvu: Hoodaviya, ne Eliyasibu, ne Pelaaya, ne Akkubu, ne Yohanaani, ne Delaaya, ne Anaani. Bano be bamu ku basibuka mu Yuda: Hezirooni, ne Karumi, ne Huuri, ne Sobali. Sobali yazaala Reyaaya eyazaala Yahati, Yahati n'azaala Ahumaayi ne Lahadi abaasibukamu abatuuze b'e Zora. Etamu yazaala abaana ab'obulenzi basatu. Yezireeli, Yisima ne Yidibbaasi. Abo baalina mwannyinaabwe erinnya lye Hazzelelipooni. Penweli kitaawe wa Gedori ne Ezeri kitaawe wa Huusa baali batabani ba Huuri omuggulanda wa Efuraati, muka Kalebu. Huuri oyo ye yasibukamu Betilehemu. Asuuri kitaawe wa Tekowa yalina abakazi babiri: Hela ne Naara. Naara n'amuzaalira Ahuzaamu, ne Heferi, ne Temeni, ne Haahasutaari. Abo be batabani ba Naara. Batabani ba Hela: Zereti, ne Yizuhaari, ne Etinaani. Koozi yazaala Anuubu ne Zobeba, ne jjajja w'ab'ennyumba ezisibuka mu Aharuheeli mutabani wa Harumu. Waaliwo omusajja erinnya lye Yabezi eyali oweekitiibwa okusinga baganda be. Nnyina yamutuuma erya Yabezi, kubanga yamuluma nnyo ng'amuzaala. Yabezi ne yeegayirira Katonda wa Yisirayeli nti: “Singa nno ompa omukisa ayi Katonda, n'ogaziya amatwale gange, n'obeeranga nange, n'omponya buli kabi, kalemenga kuntuukako.” Awo Katonda n'amuwa kye yasaba. Kelubu muganda wa Suuwa yazaala Mehiiri, Mehiiri n'azaala Esitooni, Esitooni n'azaala Betiraafa ne Pesewa, ne Tehinna eyazaala Yirinahaasi. Abasibuka mu abo be batuuze b'e Reeka. Batabani ba Kenazi: Otiniyeeli ne Seraya. Batabani ba Otiniyeeli: Hatati ne Mewonotaayi eyazaala Ofura. Seraya yazaala Yowaabu eyasibukamu ab'omu Kiwonvu ekiyitibwa eky'Abafundi, kubanga abatuuze baamu baali bafundi. Bano be batabani ba Kalebu mutabani wa Yefunne: Yiru, Ela, ne Naamu. Ela yazaala Kenazi. Batabani ba Yehalleleli: Ziifu, ne Ziifa, Tiriya, ne Asareeli. Batabani ba Ezera: Yeteri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yalooni. Meredi yawasa Bitiya muwala wa kabaka w'e Misiri, ne bazaala omuwala Miriyamu n'abalenzi babiri: Sammayi ne Yisiba. Yisiba oyo ye kitaawe wa Esitemowa. Meredi yawasa n'omukazi Omuyudaaya, ne bazaala abalenzi basatu: Yeredi kitaawe wa Gedori, Heberi kitaawe wa Soko, ne Yekutiyeeli kitaawe wa Zanowa. Hodiya yawasa mwannyina Nahamu. Batabani ba muka Hodiya oyo be basibukamu Keyila Omugarumi ne Esitemowa ow'e Maakati. Batabani ba Simooni: Amunooni, ne Rinna, ne Benihanani, ne Tilooni. Batabani ba Yisi: Zoheti, ne Benizoheti Batabani ba Seela mutabani wa Yuda: Eri kitaawe wa Leeka, ne Laada kitaawe wa Maresa, n'ab'olulyo lw'abo abaalukanga engoye, ab'ennyumba ya Asibeeya, ne Yokimu n'abatuuze b'e Kozeba, ne Yowaasi, ne Saraafu abaafuganga mu Mowaabu ne Yasubilehemu. Ebyo byabaawo dda nnyo. Abantu abo baali babumbi abakolera kabaka era nga babeera mu Netayiimu ne mu Gedera. Batabani ba Simyoni: Nemweli, ne Yamini, Yaribu, Zera, ne Sawuuli. Sawuuli yazaala Sallumu, Sallumu n'azaala Mibusaamu, Mibusaamu n'azaala Misuma. Mutabani wa Misuma: Hamweli eyazaala Zakkuri, Zakkuri n'azaala Simeeyi. Simeeyi yazaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga, n'ab'obuwala mukaaga. Kyokka baganda be tebaazaala baana bangi era Ekika kyabwe tekyayala ng'ekya Yuda bwe kyayala. Abasibuka mu Simyoni baasenga mu bibuga Beruseba, ne Molada, ne Hazarusuwali, ne Biliha, ne Ezemu, ne Tolaadi, ne Betuweeli, ne Horuma, ne Zikulagi, ne Betimarukabooti, ne Hazarisusiimu, ne Betibiri, ne Saarayiimu. Ebyo bye byali ebibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yafuuka kabaka. Era ebyalo byabwe byali Etamu, ne Ayiini, Rimmoni, ne Tokeni, ne Asani, byonna wamu bitaano, era n'ebitundu ebyetoolodde ebyalo ebyo okutuuka e Bbaali. Mu ebyo mwe baabeeranga. Bajjajjaabwe be bano: Mesobaabu, ne Yamuleeki, ne Yoosa mutabani wa Amaziya, ne Yoweeli, ne Yeehu mutabani wa Yosibiya, Yosibiya mutabani wa Seraya, Seraya mutabani wa Asiyeeli, ne Eliyowenayi, ne Yaakoba, ne Yesohaaya, ne Asaya, ne Adiyeeli, ne Yesimiyeeli, ne Benaaya, ne Ziiza mutabani wa Sifi era muzzukulu wa Alloni. Alloni yali mutabani wa Yedaaya era muzzukulu wa Simuri, Simuri mutabani wa Semaaya. Abo abamenyeddwa amannya, baali bakulu ba nnyiriri zaabwe era olulyo lwabwe lweyongera okwala, ne basengukira awayingirirwa e Gedori ku luuyi lw'ebuvanjuba bw'ekiwonvu okunoonyeza amagana gaabwe omuddo. Ne balaba awali omuddo omugimu omulungi mu nsi engazi entebenkevu era ey'emirembe. Abatuuze baamu abaasooka baali basibuka mu Haamu. Mu mulembe gwa Kabaka Heezeekiya owa Buyudaaya, abo abamenyeddwa amannya baalumba eweema n'ensiisira z'abatuuze baayo n'ez'Abamewuni be baasangayo ne babasaanyizaawo ddala, ne basengayo mu kifo kyabwe, kubanga waaliyo omuddo ogw'okuliisa amagana gaabwe. Ebikumi bitaano ku bo ne bagenda ku Lusozi Seyiri, nga bakulemberwa Pelatiya, ne Neyariya, ne Refaaya, ne Wuzziyeeli mutabani wa Yiisi. Eyo ne battirayo Abamaleki abaali basigaddewo, ne basenga eyo n'okutuusa kati. Bano be batabani ba Rewubeeni omuggulanda wa Yisirayeli. Newaakubadde Rewubeeni ono ye yali omuggulanda, kyokka olw'okwebaka ne muka kitaawe, omugabo gwe ogw'obuggulanda gwamuggyibwako, ne guweebwa batabani ba Yosefu era mutabani wa Yisirayeli. N'olwekyo enkalala z'obuzaale zaawandiikibwa nga tezigoberera buggulanda. Newaakubadde eky'okuba omuggulanda kyali kya Yosefu, kyokka Yuda ye yafuuka ow'amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava omukulembeze. Batabani ba Rewubeeni omuggulanda wa Yisirayeli be bano: Hanoki, ne Pallu, Hezirooni, ne Karumi. Batabani ba Yoweeli: Semaaya eyazaala Googi, Googi n'azaala Simeeyi, Simeeyi n'azaala Mikka. Mikka ye azaala Reyaaya, Reyaaya n'azaala Baali, Baali n'azaala Beera, Kabaka Tigulati Piluneseri owa Assiriya gwe yatwala mu buwaŋŋanguse. Beera oyo ye yali omukulembeze w'abasibuka mu Rewubeeni. Enkalala z'Abarewubeeni ziraga abakulembeze baabwe bano: Yeyeli, Zekariya, ne Bela mutabani wa Azazi, Azazi mutabani wa Sema, Sema mutabani wa Yoweeli. Abasibuka mu Yoweeli oyo, baabeeranga mu Aroweri okutuuka e Nebo n'e Baali Mewooni. Ebuvanjuba baali mu kitundu awatandikira eddungu, okutuukira ddala ku Mugga Ewufuraate, kubanga amagana gaabwe gaali mangi mu nsi y'e Gileyaadi. Mu mulembe gwa Kabaka Sawulo, Abarewubeeni ne balwanyisa Abahagari mu lutalo, ne babatta, ne babeeranga mu weema zaabwe mu kitundu kyonna ekiri ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Gileyaadi. Ab'Ekika kya Gaadi, baasenga ebukiikakkono bw'Abarewubeeni mu Basani, okutuukira ddala e Saleka. Yoweeli ye yali omukulembeze waabwe, amuddirira nga ye Safamu, ne kuddako Yaani ne Safati mu Basani. Baganda baabwe bwe bagatta bajjajjaabwe be bano: Mikayeli, ne Mesullamu, ne Seba, ne Yorayi, ne Yakani, ne Ziiya, ne Eberi, abantu musanvu. Abo be baali batabani ba Abihayili mutabani wa Huuri, Huuri mutabani wa Yarowa, Yarowa mutabani wa Gileyaadi, Gileyaadi mutabani wa Mikayeli, Mikayeli mutabani wa Yesisaayi, Yesisaayi mutabani wa Yahudo, Yahudo mutabani wa Bbuuzi. Ahi mutabani wa Abudiyeeli era muzzukulu wa Guuni, ye yali omukulu w'ennyumba za bajjajjaabe. Abagaadi ne babeeranga mu Gileyaadi ne Basani, ne mu bibuga byayo byonna, ne mu bitundu eby'amalundiro eby'e Saroni okutuukira ddala gye bikoma. Abo bonna baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale mu mulembe gwa Yotamu kabaka wa Buyudaaya, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu Owookubiri kabaka wa Yisirayeli. Ekika kya Rewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, byonna awamu byalina abaserikale emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abasajja abazira era abamanyirivu mu kukozesa engabo, n'ebitala n'obusaale, era abatendeke obulungi mu kulwana entalo. Ne balwanyisa Abahagari, n'Abayeturi, n'Abanefisi, n'Abanodabu. Beesiga Mukama ne bamusaba abayambe era n'abayamba, Abahagari ne bawangulwa wamu ne bonna be baali nabo. Ne banyaga ku balabe eŋŋamiya emitwalo etaano, endiga emitwalo amakumi abiri mu etaano, n'ennyumbu enkumi bbiri, n'abantu emitwalo kkumi. Era batta bangi, kubanga Katonda ye yalwana olutalo olwo. Ne beefuga ebitundu ebyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa. Ab'Ekimu ekyokubiri eky'Abamanasse ne beeyongera obungi, ne babeeranga mu kitundu ky'ensi eyo okuva e Basani okutuuka e Baali Herumooni ne Seniri ne ku Lusozi Herumooni. Bano be baali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe: Eferi, ne Yiisi, ne Eliyeeli, ne Azuriyeeli, ne Yeremiya, ne Hoodaviya, ne Yahudiyeeli. Abo bonna baali basajja bazira era abamanyifu ennyo. Awo abantu ne bataba beesigwa eri Katonda wa bajjajjaabwe, ne bamuvaako ne basinzanga balubaale b'abannansi Katonda be yagoba mu nsi omwo nga bo Abayisirayeli batuuka. Awo Katonda w'Abayisirayeli n'akubiriza Puuli kabaka wa Assiriya erinnya lye eddala ye Tilugati Piluneseri, okutwala mu buwaŋŋanguse Abarewubeeni, n'Abagaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'Abamanasse. Kabaka oyo n'abatwala e Hala, n'e Habori, n'e Haara, ne ku Mugga Gozani, ne babeerera ddala eyo n'okutuusa kati. Batabani ba Leevi: Gerusoomu, Kohati, ne Merari. Batabani ba Kohati: Amuraamu, ne Yizuhaari, ne Heburooni, ne Wuzziyeeli. Abaana ba Amuraamu: Arooni, ne Musa, ne Miriyamu. Batabani ba Arooni: Nadabu, ne Abihu, Eliyazaari ne Yitamaari. Eliyazaari yazaala Finehaasi, Finehaasi n'azaala Abisuuwa, Abisuuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Wuzzi, Wuzzi n'azaala Zerahiya, Zerahiya n'azaala Merayooti, Merayooti n'azaala Amariya, Amariya n'azaala Ahituubu. Ahituubu yazaala Zaddooki, Zaddooki n'azaala Ahimaazi, Ahimaazi n'azaala Azariya, Azariya n'azaala Yohanaani, Yohanaani n'azaala Azariya eyaweereza mu bwakabona mu Ssinzizo, Solomooni lye yazimba mu Yerusaalemu. Azariya oyo yazaala Amariya, Amariya n'azaala Ahituubu, Ahituubu n'azaala Zaddooki, Zaddooki n'azaala Sallumu, Sallumu n'azaala Hilukiya, Hilukiya n'azaala Azariya. Azariya yazaala Seraya, Seraya n'azaala Yehozadaaki, Yehozadaaki oyo yawaŋŋangusibwa, Mukama bwe yatwala ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu mu busibe ng'akozesa Nebukadunezzari. Batabani ba Leevi: Gerusoomu, Kohati, ne Merari. Amannya g'abatabani ba Gerusoomu ge gano: Libuni ne Simeeyi. Batabani ba Kohati: Amuraamu, ne Yizihaari, ne Heburooni, ne Wuzziyeeli. Batabani ba Merari: Mahuli ne Musi. Olwo lwe lulyo lw'Abaleevi, nga bajjajjaabwe bwe baddiriŋŋana. Bano be basibuka mu Gerusoomu: Gerusoomu yazaala Libuni, Libuni n'azaala Yahati, Yahati n'azaala Zimma. Zimma yazaala Yoowa, Yoowa n'azaala Yiddo, Yiddo n'azaala Zeta, Zeta n'azaala Yeyaterayi. Bano be basibuka mu Kohati: Kohati yazaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Koora, Koora n'azaala Asiiri. Asiiri yazaala Elukaana, Elukaana n'azaala Ebiyasaafu, Ebiyasaafu n'azaala Asiiri, Asiiri n'azaala Tahati, Tahati n'azaala Wuriyeeli, Wuriyeeli n'azaala Wuzziya, Wuzziya n'azaala Sawuuli. Abasibuka mu Elukaana be bano: Elukaana yazaala Amasaayi ne Ahimooti, Ahimooti n'azaala Elukaana, Elukaana n'azaala Zoofayi, Zoofayi n'azaala Nahati, Nahati n'azaala Eliyaabu, Eliyaabu n'azaala Yerohaamu, Yerohaamu n'azaala Elukaana. Samweli yazaala abaana babiri: Yoweeli ye muggulanda we, owookubiri ye Abiya. Bano basibuka mu Merari: Merari yazaala Mahuli, Mahuli n'azaala Libuni, Libuni n'azaala Simeeyi, Simeeyi n'azaala Wuzza. Wuzza yazaala Simeeya, Simeeya n'azaala Haggiya, Haggiya n'azaala Asaya. Waliwo abantu Kabaka Dawudi be yalonda okukulira eby'okuyimba mu Ssinzizo ly'e Yerusaalemu, Essanduuko y'Endagaano ya Mukama bwe yamala okuyingizibwa mu Ssinzizo eryo. Baaweerezanga mu mpalo mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga bayimba, okutuusa Kabaka Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo lya Mukama mu Yerusaalemu. Abantu abo abaateekebwawo, be bano: Okuva mu basibuka mu Kohati, waaliwo Hemani omukulu w'abayimbi, mutabani wa Yoweeli, Yoweeli mutabani wa Samweli, Samweli mutabani wa Elukaana, Elukaana mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Eliyeeli, Eliyeeli mutabani wa Toowa, Toowa mutabani wa Zufu, Zufu mutabani wa Elukaana, Elukaana mutabani wa Mahati, Mahati mutabani wa Amasaayi, Amasaayi mutabani wa Elukaana, Elukaana mutabani wa Yoweeli, Yoweeli mutabani wa Azariya, Azariya mutabani wa Zefaniya, Zefaniya mutabani wa Tahati, Tahati mutabani wa Asiiri, Asiiri mutabani wa Ebiyasaafu, Ebiyasaafu mutabani wa Koora, Koora mutabani wa Yizuhaari, Yizuhaari mutabani wa Kohati, Kohati mutabani wa Leevi, Leevi mutabani wa Yisirayeli. Munne wa Hemani era eyamuyimiriranga ku mukono ogwa ddyo, yali Asafu mutabani wa Berekiya, Berekiya mutabani wa Simeeya, Simeeya mutabani wa Mikayeli, Mikayeli mutabani wa Baaseya, Baaseya mutabani wa Malukiya, Malukiya mutabani wa Etuni, Etuni mutabani wa Zera, Zera mutabani wa Adaaya, Adaaya mutabani wa Etani, Etani mutabani wa Zimma, Zimma mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Yahati, Yahati mutabani wa Gerusoomu, Gerusoomu mutabani wa Leevi. N'oyo eyayimiriranga ku gwa kkono gwa Hemani ne Asafu, yali ava mu basibuka mu Merari, nga ye Etani mutabani wa Kiisi, Kiisi mutabani wa Abudi, Abudi mutabani wa Malluki, Malluki mutabani wa Hasabiya, Hasabiya mutabani wa Amaziya, Amaziya mutabani wa Hilukiya, Hilukiya mutabani wa Amuzi, Amuzi mutabani wa Baani, Baani mutabani wa Semeri, Semeri mutabani wa Mahuli, Mahuli mutabani wa Muusi, Muusi mutabani wa Merari, Merari mutabani wa Leevi. Baleevi bannaabwe abalala bonna ne baweebwa emirimu emirala gyonna, egy'omu Ssinzizo. Arooni n'abasibuka mu ye ne baweerangayo ku alutaari ebiweebwayo ebyokebwa, era ne booterezanga obubaane ku alutaari yaabwo. Ne bakolanga emirimu gyonna egy'omu Kifo Ekitukuvu, era ne basabiranga Abayisirayeli okusonyiyibwa ebibi byabwe, nga Musa omuweereza wa Katonda, bwe yalagira. Era bano be basibuka mu Arooni: Arooni yazaala Eleyazaari, Eleyazaari n'azaala Finehaasi, Finehaasi n'azaala Abisuuwa, Abisuuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Wuzzi, Wuzzi n'azaala Zerahiya, Zerahiya n'azaala Merayooti, Merayooti n'azaala Amariya, Amariya n'azaala Ahituubu, Ahituubu n'azaala Zaddooki, Zaddooki n'azaala Ahimaazi. Bino bye bifo ab'olulyo lwa Arooni mwe baasenga. Abakohati akalulu be kaasooka okulonda ne baweebwa aw'okusenga mu kitundu ekyaweebwa Abaleevi. Baaweebwa Heburooni eky'omu Buyudaaya, n'amalundiro agakyetoolodde. Kyokka ennimiro zaakyo, wamu n'ebyalo byakyo byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefunne. Era baawa abasibuka mu Arooni ebibuga eby'obuddukiro: Heburooni, ne Libuna, n'amalundiro gaabyo, ne Yattiri, ne Esitemowa n'amalundiro gaabyo, ne Hileeni n'amalundiro gaakyo, ne Debiri n'amalundiro gaakyo, ne Asani n'amalundiro gaakyo, ne Betusemesi n'amalundiro gaakyo. Mu kitundu ekyagabanibwa Ekika kya Benyamiini, Abaleevi ne baweebwa ebibuga bino: Geba n'amalundiro gaakyo, ne Alemeti n'amalundiro gaakyo, ne Anatooti n'amalundiro gaakyo. Ebibuga byabwe byonna ebyaweebwa ab'ennyumba zaabwe zonna, byali kkumi na bisatu. Era akalulu bwe kaakubwa, Abahokati abalala ne baweebwa ebibuga kkumi, ebyali mu kitundu ky'ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse. Aba buli nnyumba ez'abasibuka mu Gerusoomu, nabo ne baweebwa ebibuga eby'okubeerangamu. Bonna awamu baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu ebyaggyibwa ku Kika kya Yissakaari, ne ku kya Aseri, ne ku kya Nafutaali, ne ku kya Manasse eky'omu Basani. N'aba buli nnyumba ez'abasibuka mu Merari, ne baweebwa ebibuga eby'okubeerangamu. Bonna awamu baakubirwa akalulu ne baweebwa ebibuga kkumi na bibiri ebyaggyibwa ku Kika kya Rewubeeni, ne ku kya Gaadi, ne ku kya Zebbulooni. Bwe batyo Abayisirayeli ne bawa Abaleevi ebibuga eby'okubeerangamu, nga babaweerako n'amalundiro ageetoolodde ebibuga ebyo. Ebibuga ebimenyeddwa amannya ebyaggyibwa ku b'Ekika kya Yuda ne ku b'Ekika kya Simyoni, ne ku b'Ekika kya Benyamiini byagabirwa Abaleevi nga bikubirwa kalulu. Ab'ennyumba ezimu ku ezo ezisibuka mu Kohati baalina ebibuga ebyabwe, ebyaggyibwa ku Kika kya Efurayimu. Ne baaweebwa ebibuga: Sekemu eky'obuddukiro, n'amalundiro gaakyo ku lusozi Efurayimu, ne Gezeri n'amalundiro gaakyo, ne Yokumeyaamu n'amalundiro gaakyo, ne Beti Horoni n'amalundiro gaakyo, ne Ayiyalooni n'amalundiro gaakyo, ne Gatirimooni n'amalundiro gaakyo, Ate ebyaggyibwa ku kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse: Aneri n'amalundiro gaakyo, ne Bileyaamu n'amalundiro gaakyo, ne biweebwa abasibuka mu Kohati abaali batannafuna. Abasibuka mu Gerusoomu ne baweebwa ebibuga bino: ebyaggyibwa ku kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse: Golani eky'omu Basani, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Asitarooti n'amalundiro gaakyo; n'ebyaggyibwa ku Kika kya Yissakaari: Kedesi n'amalundiro gaakyo, ne Daberaati n'amalundiro gaakyo ne Ramoti n'amalundiro gaakyo, ne Aneemu n'amalundiro gaakyo. Era ne baweebwa ebyaggyibwa ku Kika kya Aseri: Masali n'amalundiro gaakyo, ne Abudooni n'amalundiro gaakyo; ne Hukoki n'amalundiro gaakyo, ne Rehobu n'amalundiro gaakyo; ebyaggyibwa ku Kika kya Nafutaali: Kedesi, eky'omu Galilaaya, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Hammoni n'amalundiro gaakyo, ne Kiriyatayiimu n'amalundiro gaakyo. Abasibuka mu Merari abaali batannafuna bibuga, ne baweebwa bino ebyaggyibwa ku Kika kya Zebbulooni, Rimmoni n'amalundiro gaakyo, ne Tabori n'amalundiro gaakyo. Ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani, okumpi n'Ekibuga Yeriko, ne baweebwa ebibuga ebyaggyibwa ku Kika kya Rewubeeni: Bezeri eky'omu ddungu, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Yahuza n'amalundiro gaakyo; ne Kedemooti n'amalundiro gaakyo, ne Mefaati n'amalundiro gaakyo, n'ebyaggyibwa ku Kika kya Gaadi: ne baweebwa Ramoti eky'omu Gileyaadi, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Mahanayimu n'amalundiro gaakyo, ne Hesubooni n'amalundiro gaakyo, ne Yazeri n'amalundiro gaakyo. Yissakaari yalina abaana ab'obulenzi bana: Tola, ne Puwa, Yasubu, ne Simurooni. Batabani ba Tola: Wuzzi, ne Refaaya, ne Yeriyeeli, ne Yahumayi, ne Yibusaamu, ne Semweli, be bakulu b'ennyumba z'abasibuka mu Tola, era abasajja ab'amaanyi abazira mu mirembe gyabwe. Mu mulembe gwa Dawudi, ababasibukamu baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga. Mutabani wa Wuzzi yali Yizirahiya. Yizirahiya oyo yazaala abaana ab'obulenzi bana: Miikaneeli, ne Obadiya, ne Yoweeli, ne Yissiya. Bonna abo abasibuka mu Wuzzi baali bantu bakulu mu Kika kyabwe. Baawasa abakazi bangi era baazaala abaana bangi, abasibuka mu bo ne basobola okuvaamu eggye ly'abaserikale emitwalo esatu mu kakaaga. Enkalala entongole ez'amannya g'ab'Ekika kya Yissakaari ziraga abasajja emitwalo munaana mu kasanvu, bonna abaserikale abazira. Batabani ba Benyamiini basatu: Bela, ne Bekeri, ne Yediyayeeli. Batabani ba Bela baali bataano: Ezibooni, ne Wuzzi, ne Wuzziyeeli, ne Yerimooti, ne Yiri. Bonna baali bakulu ba nnyumba mu Kika kyabwe, nga batabaazi bazira. Ababasibukamu baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu asatu mu bana, abasobola okulwana mu lutalo. Batabani ba Bekeri: Zemira, ne Yowaasi, ne Eliyezeeri, ne Eleyowenari, ne Omuri, ne Yerimooti, ne Abiya, ne Anatooti, ne Alameti. Abo bonna be batabani ba Bekeri. Enkalala entongole ez'amannya gaabwe, ziraga nga baalimu abaserikale abazira emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri. Mutabani wa Yediyayeeli: Bilihaani. Bilihaani oyo yazaala Yewusi ne Benyamiini, ne Ehudi, Kenaana, Zetani, ne Tarusiisi, ne Ahisaahari. Abo bonna baana ba Yediyayeeli. Baali bakulu ba nnyumba mu Kika kyabwe, abaserikale abazira. Abasibuka mu bo, baali omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri, abasobola okulwana mu lutalo. Suppimu ne Huppimu be baali batabani ba Yiri, Husimu nga wa Aheri. Batabani ba Nafutaali: Yahaziyeeli, ne Guni, ne Yezeri, ne Sallumu, bazzukulu ba Biliha. Manasse yalina omukazi Omussiriya, eyamuzaalira Asiriyeeli, ne Makiri kitaawe wa Gileyaadi. Makiri n'awasa omukazi mwannyina Huppimu ne Suppimu, erinnya lye Maaka. Omwana ow'obulenzi owookubiri owa Makiri yali Zelofehaadi. Zelofehaadi oyo, yazaala abaana ba buwala bokka. Maaka muka Makiri, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Peresi. Ne muganda w'oyo yali Seresi. Batabani ba Peresi: Wulamu ne Rakemu. Wulamu yazaala Bedani. Abo be basibuka mu Gileyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manasse. Gileyaadi yalina mwannyina nga ye Hammoleketi, eyazaala Yisihoodi, ne Abiyezeeri, ne Mahula. Batabani ba Semida: Ahiyaani, ne Sekemu, ne Liki; ne Aniyaamu. Efurayimu yazaala Sutela, Sutela n'azaala Beredi, Beredi n'azaala Tahati, Tahati n'azaala Elaada, Elaada n'azaala Tahati, Tahati n'azaala Zabadi, Zabadi n'azaala Sutela. Efurayimu era yalina ne batabani be abalala babiri: Ezeri ne Eleyaadi, abattibwa Abagaati abazaaliranwa b'omu nsi eyo, abajja okubanyagako ente zaabwe. Kitaabwe Efurayimu n'abakungubagira okumala ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza. Efurayimu ne yeegatta ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, Efurayimu n'amutuuma erinnya Beriya, kubanga akabi kaagwira amaka ge. Efurayimu yalina omwana ow'obuwala erinnya lye Seera, eyazimba ebibuga Beti Horoni byombi, ekyawansi n'eky'engulu, ne Wuzzenuseera. Efurayimu era yalina mutabani we omulala, erinnya lye Reefa. Reefa oyo yazaala Resefu, Resefu n'azaala Tela, Tela n'azaala Tahani, Tahani n'azaala Laadani, Laadani n'azaala Ammihudi, Ammihudi n'azaala Elisaama, Elisaama n'azaala Nooni, Nooni n'azaala Yehosuwa. Obutaka bwabwe bwali Beteli n'ebyalo ebikyetoolodde, n'okutuuka e Gaaza n'ebyalo ebikyetoolodde. Abasibuka mu Manasse, baalina Betisaani n'obubuga bwakyo, Taanaki n'obubuga bwakyo, Megiddo n'obubuga bwakyo, ne Doori n'obubuga bwakyo. Ebifo ebyo byonna bye byasengamu abasibuka mu Yosefu, mutabani wa Yisirayeli. Batabani ba Aseri: Yimuna, ne Yisuwa, ne Yisuwaayi, ne Beriya. Mwannyinaabwe yali Seera. Batabani ba Beriya: Heberi, ne Malukiyeeli kitaawe wa Biruzayiti. Heberi yazaala Yafuleeti, ne Someeri, ne Hotamu, ne mwannyinaabwe Suuwa. Batabani ba Yafuleeti: Pasaki, ne Bimuhaali, ne Asuvaati. Batabani ba Someeri: Ahi, ne Rooga, ne Yehubba, ne Araamu. Batabani ba muganda we Hotamu: Zoofa, ne Yimuna, ne Selesi ne Amali. Batabani ba Zoofa: Suuwa, ne Haruneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Yimura, Bezeri, ne Hoodi, ne Samma, Silusa, ne Yituraani, ne Beera. Batabani ba Yeteri: Yefunne, ne Pisupa, ne Ara. Batabani ba Wulla: Ara, ne Hanniyeeli, ne Riziya. Abo bonna baali basibuka mu Aseri, era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe, nga basajja balwanyi bazira abeesigika, era nga bakulembeze batutumufu. Baalimu abasajja abasobola okulwana mu lutalo emitwalo ebiri mu kakaaga. Benyamiini yazaala Bela, ye muggulanda we, owookubiri Asubeeli, owookusatu Ahura, owookuna Nooha, owookutaano Raama. Bela yazaala Addari, ne Geera, ne Abihuudi, ne Abisuuwa, ne Naamani, ne Ahoowa, ne Gera, ne Sefufaani, ne Huramu. Bano be basibuka mu Ehudi, abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abantu b'e Geba era abawaŋŋangusirizibwa e Manohati: Naamani, ne Ahiya ne Gera eyabawaŋŋangusa era oyo ye kitaawe wa Wuzza ne Ahihudi. Saharayiimu yazaala abaana ab'obulenzi bwe yamala okugoba abakazi be Husimu ne Baara. N'awasa Hodesi ne bazaala Yobabu, ne Zibiya ne Meesa, ne Malukaamu, ne Yewuzi, ne Saakiya, ne Miruma. Bonna abo be baali batabani be, abaafuuka abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe. Ne mukazi we Husimu yali azaddemu Abituubu ne Elupaali. Batabani ba Elupaali: Eberi, ne Misaamu, ne Samedi. Samedi oyo ye yazimba ebibuga Ono ne Loodi n'obubuga obubyetoolodde, Beriya ne Sema be baali abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abantu b'e Ayiyalooni. Abo baagenda e Gaati ne bagobayo abatuuze baayo. Mu basibuka mu Beriya, mwe mwali Ahiyo, Sasaki, ne Yeremooti, ne Zebadiya, ne Araadi, ne Aderi, ne Mikayeli, ne Yisupa, ne Yoha. Batabani ba Elupaali: Zebadiya, ne Mesullamu, ne Heziki, ne Heberi, ne Yisumeraaya, ne Yizuliya, ne Yobabu. Yakimu, ne Zikuri, ne Zabudi, ne Eliyenayi, ne Zilutaayi, ne Eliyeeli, ne Adaaya, ne Beraaya, ne Simuraati, baali batabani ba Simeeyi. Yisupa, ne Heberi, ne Eliyeeli, ne Abudooni, ne Zikuri, ne Hanani, ne Hananiya, ne Elamu, ne Anutotiya, ne Yifudeya, ne Penweli, batabani ba Sasaki. Samuserayi, ne Sehariya, ne Ataliya, ne Yaaresiya, ne Eliya, ne Zikuri, bonna basibuka mu Yerohaamu. Abo be baali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ng'emirembe bwe gyagenda giddiriŋŋana, era baabeeranga mu Yerusaalemu. Kitaawe wa Gibiyoni yabeeranga Gibiyoni, era mukazi we yali ayitibwa Maaka. Batabani be baali Abudooni omuggulanda, ne Zuuri, ne Kiisi, ne Baali, ne Naadabu, ne Gedori, ne Ahiyo, ne Zekeri, ne Mikilooti kitaawe wa Simeeya. Abo nabo baabeeranga mu Yerusaalemu wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala. Neeri yazaala Kiisi, Kiisi n'azaala Sawulo, Sawulo n'azaala Yonataani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali. Mutabani wa Yonataani yali Meribbaali, Meribbaali yazaala Mikka. Batabani ba Mikka: Pitoni, ne Meleki, ne Tareya, ne Ahazi. Ahazi yazaala Yehoyaada, Yehoyaada n'azaala Alemeti, ne Azumaveti, ne Zimuri, Zimuri n'azaala Moza, Moza n'azaala Bineya, Bineya n'azaala Raafa, Raafa n'azaala Eleyaasa, Eleyaasa n'azaala Azeli. Azeeli yazaala abaana ab'obulenzi mukaaga, era amannya gaabwe ge gano: Azurikaamu, ne Bokeru, ne Yisimayeli, ne Seyariya, ne Obadiya, ne Hanani. Abo bonna baali batabani ba Azeli. Batabani ba Eseki muganda wa Azeli be bano: omuggulanda yali Wulamu, owookubiri Yewusi, owookusatu Elifeleti. Batabani ba Wulamu baali basajja ba maanyi abazira, abakugu mu kulasa obusaale. Baalina abaana n'abazzukulu bangi, bonna awamu kikumi mu ataano. Abo bonna baali ba mu Kika kya Benyamiini. Awo Abayisirayeli bonna ne bawandiikibwa amannya mu nkalala eziraga obuzaale bwabwe. Enkalala ezo ne ziwandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Yisirayeli. Abantu b'omu Buyudaaya baali baatwalibwa e Babilooni nga basibe, okubabonereza olw'ebibi byabwe. Abantu abaasooka okudda mu bibanja byabwe ne mu bibuga byabwe, baali abamu ku Bayisirayeli abaabulijjo, ne bakabona, n'Abaleevi, n'abakozi ab'omu Ssinzizo. Abamu ku b'omu Bika ekya Yuda, n'ekya Benyamiini, n'ekya Efurayimu n'ekya Manasse, ne babeera mu Yerusaalemu, era be bano: Wutayi mutabani wa Ammihudi, era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Owuri, ne Yimuri, ne Baani, ne Pereezi mutabani wa Yuda; mu basibuka mu Seela mutabani wa Yuda: Asaya omuggulanda ne batabani be. Ku batabani ba Zera era mutabani wa Yuda: Yeweli ne baganda be, bonna awamu abantu lukaaga mu kyenda. Ku basibuka mu Benyamiini: Sallu mutabani wa Mesullamu, era muzzukulu wa Hoodaviya mutabani wa Hasenuwa; Yibuniya mutabani wa Yerohaamu, ne Ela mutabani wa Wuzzi era muzzukulu wa Mikuri; ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya era muzzukulu wa Reweli mutabani wa Yibuniya. Abasajja Ababenyamiini bonna awamu, baali lwenda mu ataano mu mukaaga. Abo bonna baali bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe. Bano be bakabona abaabeeranga mu Yerusaalemu: Yedaaya, ne Yehoyaribu, ne Yakini, ne Azariya mutabani wa Hilukiya era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Mesullamu, Zaddooki, Merayooti, ne Ahituubu eyalabiriranga Essinzizo. Bakabona abalala baali: Adaaya mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Pasuhuuri, Pasuhuuri mutabani wa Malukiya; ne Maasayi mutabani wa Adiyeeli, era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Yazera, Mesullamu, Mesillemiti, ne Yimmeri. Bakabona abo baali bakulu mu nnyumba za bajjajjaabwe, era wamu ne baganda baabwe, baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basobolera ddala okukola obulungi emirimu gyonna egy'omu Ssinzizo, Bano be Baleevi, abaabeeranga mu Yerusaalemu: Semaaya mutabani wa Hassubu, Hassubu mutabani wa Azurikaamu, Azurikaamu mutabani wa Hasibiya asibuka mu Merari; ne Bakubakkari, Heresi, ne Galali, ne Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka mutabani wa Zikuri, Zikuri mutabani wa Asafu; ne Obadiya mutabani wa Semaaya era muzzukulu wa Galali, Galali mutabani wa Yedutuuni, ne Berekiya mutabani wa Asa era muzzukulu wa Elukaana eyabeeranga mu byalo by'Abametofa. Abaggazi: Sallumu, ne Akkubu, ne Talumooni, ne Ahimaani, ne baganda baabwe. Sallumu ye yali abakulira. Abo be baggazi abaakuumanga omulyango ogw'ebuvanjuba ogwayitibwanga Omulyango gwa Kabaka. Era be baali abaggazi ku miryango egyayingiranga mu buli lusiisira lw'Abaleevi. Sallumu mutabani wa Koore era muzzukulu wa Ebiyasaafu mutabani wa Koora, wamu n'ab'olulyo lwe abasibuka mu jjajjaabwe Koora, be baalabiriranga omulimu gw'obuweereza, nga be baggazi b'emiryango gy'Eweema, nga bajjajjaabe bwe baalabiriranga olusiisira lwa Mukama, nga be bakuumi b'omulyango. Finehaasi mutabani wa Eleyazaari ye yakuliranga abaggazi abo mu biseera eby'edda, Mukama ng'ali naye. Zekariya mutabani wa Meselemiya ye yali omuggazi w'omulyango oguyingira mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi b'emiryango, baali ebikumi bibiri mu kkumi na babiri. Bawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku buzaale bwabwe mu byalo byabwe gye baabeeranga. Abo be bantu Kabaka Dawudi n'omulanzi Samweli be baalonda okukolanga omulimu ogwo ogwateekebwawo. Abantu abo wamu ne bazzukulu baabwe ne babeeranga abaggazi b'emiryango gy'Essinzizo mu mpalo. Abaggazi abo baabeeranga ku njuyi zonna ez'Essinzizo: ebuvanjuba, n'ebugwanjuba, n'ebukiikakkono, n'ebukiikaddyo. Ab'eŋŋanda zaabwe abaabeeranga mu byalo, bajjanga ne babayamba mu mpalo ku mulimu ogw'obuggazi, okumala ennaku musanvu musanvu. Omulimu guno ogwateekebwawo gwaliko abaggazi abakulu bana Abaleevi, era be baalabiriranga ebisenge n'amawanika eby'oku Ssinzizo. Baasulanga awo nga beetoolodde Essinzizo, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okulikuuma n'ogw'okuliggulangawo buli nkya. Abamu ku Baleevi baakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu ebikozesebwa mu kusinza, kubanga byabalibwanga nga bitwalibwa okukozesebwa, era ne bibalibwanga nga babikomezzaawo okubitereka. Abalala ne bakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu ebirala byonna ebikozesebwa mu Kifo Ekitukuvu, n'okulabiriranga obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo, n'obubaane, n'ebyakaloosa. Era abamu ku bakabona be baalongoosanga ebyakaloosa. Mattitiya Omuleevi, omuggulanda wa Sallumu asibuka mu Koora, ye yakolanga omulimu ogwateekebwawo ogw'okufumba obugaati obw'empewere. Abamu ku baganda baabwe ab'olulyo lwa Kohati, be baateekateekanga emigaati egiweebwayo eri Katonda egyateekebwanga ku mmeeza buli Sabbaato. N'abamu ku Baleevi baali bayimbi era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe. Baasulanga mu bisenge by'oku Ssinzizo, era tebaaweebwa mulimu mulala gwonna, kubanga omulimu ogwabwe baagukolanga emisana n'ekiro. Abo baali bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe mu lulyo lw'Abaleevi, mu nnyiriri z'obuzaale bwabwe. Baali bakulembeze, era baabeeranga Yerusaalemu. Yeyeli kitaawe wa Gibiyoni yabeeranga mu Gibiyoni. Erinnya lya mukazi we, nga ye Maaka. Mutabani we omuggulanda yali Abudooni. Batabani be abalala be bano: Zuuri, ne Kiisi, ne Baali, ne Neeri, ne Nadabu, ne Gedori, ne Ahiyo, ne Zekariya, ne Mikilooti, kitaawe wa Simeyaamu. Abo nabo baabeeranga mu Yerusaalemu wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala. Neeri yazaala Kiisi, Kiisi n'azaala Sawulo, Sawulo n'azaala Yonataani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali. Mutabani wa Yonataani yali Meribbaali kitaawe wa Mikka. Batabani ba Mikka baali Pitoni, ne Meleki, ne Tareya, ne Ahazi, kitaawe wa Yara. Yara yazaala Alemeti, ne Azumaveti, ne Zimuri kitaawe wa Moza. Moza n'azaala Bineya, Bineya n'azaala Refaaya, Refaaya n'azaala Eleyaasa, Eleyaasa n'azaala Azeli. Azeli oyo yazaala abalenzi mukaaga, era gano ge mannya gaabwe: Azurikaamu, Bokeru, ne Yisimayeli, ne Seyariya, ne Obadiya, ne Hanani. Abo be baali batabani ba Azeli. Awo Abafilistiya ne balwanyisa Abayisirayeli, Abayisirayeli ne badduka Abafilistiya, era Abayisirayeli bangi ne battirwa ku Lusozi Gilubowa. Abafilistiya ne bawondera Sawulo ne batabani be, ne batta Yonataani, ne Abinadabu, ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo. Olutalo ne lunyigiriza nnyo Sawulo, abalasi b'obusaale ne bamulaba, ne bamulasa obusaale, n'afuna ebisago eby'amaanyi. Sawulo n'agamba oyo eyakwatanga ebyokulwanyisa bye nti: Ggyayo ekitala kyo, onzite, abo abatali bakomole baleme okujja ne banswaza. Kyokka eyakwatanga ebyokulwanyisa bye, n'agaana, kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava aggyayo ekitala kye, n'akyetungako. Awo eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeetunga ku kitala ekikye, n'afa. Bw'atyo Sawulo n'akisa omukono, ne batabani be abasatu, n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu. Abayisirayeli abaali mu kiwonvu bwe baalaba ng'eggye lya Yisirayeli lidduse era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafilistiya ne bajja ne babibeeramu. Awo ku lunaku olwaddako, Abafilistiya bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga enjole ya Sawulo n'emirambo gya batabani be, nga gigudde ku Lusozi Gilubowa. Sawulo ne bamwambula ne bamutemako omutwe, ne bagutwala awamu n'ebyokulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafilistiya, okutuusaayo amawulire ago, eri ebifaananyi bye basinza, ne mu bantu. Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya balubaale baabwe, ne bawanika omutwe gwe mu ssabo lya Lubaale Dagoni. Abatuuze b'e Yabesi Gileyaadi bonna bwe baawulira ekyo Abafilistiya kye baakola Sawulo, abazira bonna ne bagenda ne baggyayo enjole ya Sawulo, n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne babaziika eyo, wansi w'omuvule, ne basiibira ennaku musanvu. Bw'atyo Sawulo n'akisa omukono, olw'obutaba mwesigwa eri Mukama. Yagaana okukola ekyo Mukama kye yamulagira, era yeebuuza ku musamize amulagule, n'ateebuuza ku Mukama, Mukama kyeyava amutta, obwakabaka n'abuwa Dawudi mutabani wa Yesse. Awo Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaana, ne bajja eri Dawudi mu Heburooni ne bamugamba nti: “Tuli baganda bo ddala. Mu biro eby'edda, Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wakulemberanga Abayisirayeli mu ntabaalo. Mukama Katonda wo n'akugamba nti: ‘Ggwe olikulembera abantu bange Abayisirayeli, era ggwe oliba omufuzi waabwe.’ ” Awo abakulembeze bonna aba Yisirayeli ne bajja eri Kabaka Dawudi mu Heburooni. N'akolerayo nabo endagaano mu maaso ga Mukama, ne bamufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Samweli. Awo Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne bagenda ne balumba Yerusaalemu. Olwo kyali kiyitibwa Yebusi, ng'Abayebusi, abatuuze b'omu nsi eyo be bakibeeramu. Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti: “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n'awamba ekigo ky'e Siyooni, ne kifuuka Ekibuga kya Dawudi. Dawudi n'agamba nti: “Anasooka okuttayo Abayebusi ye anaafuuka omukulu era omuduumizi w'eggye.” Awo Yowaabu nga nnyina ye Zeruyiya, n'aba nga ye asoose okulumba, n'afuuka omukulu w'eggye. Dawudi n'agenda n'abeera mu kigo ekyo, kyebaava bakiyita Ekibuga kya Dawudi. N'akizimba buggya enjuyi zonna okutandikira mu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo. Yowaabu n'azimba buggya ebitundu ebirala eby'ekibuga ekyo. Dawudi n'agenda nga yeeyongera okuba ow'amaanyi, kubanga Mukama Nnannyinimagye yali naye. Bano be baali abakulu, abasajja ab'amaanyi, abazira Dawudi be yalina. Nga bali wamu n'Abayisirayeli bonna, baamuyamba okufuuka kabaka, nga Mukama bwe yagamba ku Ggwanga lya Yisirayeli, era be baakuuma obwakabaka bwe nga bwa maanyi. Abasajja abo ab'amaanyi Dawudi be yalina, be bano: Yasobeyaamu Omuhakimooni omukulu w'abo Amakumi Asatu. Olumu yakwata effumu lye n'alwanyisa abasajja ebikumi bisatu, n'abatta. Owookubiri ku basatu ab'amaanyi, ye Eleyazaari mutabani wa Dodo Omwahohi. Yali wamu ne Dawudi e Pasidammimu, Abafilistiya bwe baakuŋŋaanira eyo okubalwanyisa mu lutalo awaali omusiri ogujjuddemu bbaale, Abayisirayeli abalala ne badduka. Ye ne basajja be ne bayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, ne batta Abafilistiya. Mukama n'abawa obuwanguzi obw'amaanyi. Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta, ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adullamu, eggye ly'Abafilistiya nga lisiisidde mu Kiwonvu Refayiimu. Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo ekigumu, ate Abafilistiya ng'enkambi yaabwe bagikubye Betilehemu. Dawudi ne yeegomba, n'agamba nti: “Kale singa wabaddewo anandeetera amazzi ag'okunywa agava ku luzzi olw'e Betilehemu, oluli okumpi ne wankaaki.” Awo abo abasatu ne bawaguza mu lusiisira olw'Abafilistiya, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Betilehemu, olwali okumpi ne wankaaki, ne bagaleetera Dawudi. Kyokka Dawudi n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama, n'agamba nti: “Katonda wange aleme kunzikiriza kunywa mazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima.” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo bye byobuzira abasajja abasatu abo ab'amaanyi bye baakola. Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu. Yakwata effumu lye n'alwanyisa abasajja ebikumi bisatu, n'abatta, n'ayatiikirira mu basatu. Ku basatu abo, yali waakitiibwa, ababiri baamussangamu ekitiibwa n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye. Benaaya mutabani wa Yehoyaada ow'e Kabuzeeli naye yali musajja muzira, yakola ebikolwa eby'amaanyi. Yatta Abamowaabu babiri ab'amaanyi ng'empologoma. Era olumu mu biseera eby'obutiti, yakka mu bunnya n'atta empologoma. Era yatta Omumisiri, omusajja omuwanvu ennyo, eyali asobya mu mita ebbiri obuwanvu. Omumisiri oyo yali akutte effumu ng'olunyago lwalyo lwenkana empagi erukirwako engoye. Benaaya n'agenda gy'ali ng'alina muggo, n'amusikako effumu lye, n'alimufumisa, n'amutta. Ebyo Benaaya mutabani wa Yehoyaada bye yakola, n'ayatiikirira ku basajja abo ab'amaanyi abasatu. Kale yalina ekitiibwa okusinga abo amakumi asatu, kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be. Abasajja abalala ab'amaanyi mu ab'omu ggye be bano: Asaheeli muganda wa Yowaabu, Eluhanani mutabani wa Dodo ow'e Betilehemu. Sammoti Omuharori, Helezi Omupelooni; Yira mutabani wa Yikkesi Omutekowa; Abiyezeeri Omwanatooti; Sibbekaayi Omuhusati, Yilayi Omwahohi; Maharaayi Omunetofa, Heledi mutabani wa Baana Omunetofa; Yitayi mutabani wa Ribayi ow'e Gibeya eky'Ababenyamiini. Benaaya Omupiratoni. Hurayi ow'oku bugga bw'e Gaasi. Abiyeeli Omwaruuba, Azumaveti Omubaharuumu. Eliyaaba Omusaalubooni. Batabani ba Hasemu Omugizoni, Yonataani mutabani wa Sage Omuharari. Ahiyaamu mutabani wa Sakari Omuharari, Elifaali mutabani wa Wuuri. Heferi ow'e Mekera, Ahiya Omupelooni. Heziro Omukarumeeli, Naarayi mutabani wa Ezubaayi. Yoweeli muganda wa Natani, Mibuhaari mutabani wa Haguri. Zeleki Omwammoni, Naharayi Omubeeroti, eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya. Yira Omuyituri, Garebu Omuyituri; Wuriya Omuhiiti, Zabadi mutabani wa Ahulaayi. Adina mutabani wa Siza Omurewubeeni era omukulembeze w'Abarewubeeni wamu n'ekibinja kye eky'amakumi asatu. Hanani mutabani wa Maaka, ne Yosafaati Omumituni; Wuzziya Omwasuteraati, Saama ne Yeyeli batabani ba Hotamu Omwaroweri; Yediyayeeli, ne Yoha, batabani ba Simuri ow'e Tiizi; Eliyeeli Omumahavi, ne Yeribayi, ne Yosaviya, batabani ba Elunaamu, ne Yitima Omumowaabu; Eliyeeli, ne Obedi, ne Yaasiyeeli Omumezooba. Dawudi bwe yali e Zikulagi ng'akyekwese Kabaka Sawulo mutabani wa Kiisi, bano be bajja gy'ali ne bamwegattako, era be bamu ku batabaazi abaamuyambanga mu ntalo ze yalwananga. Baali ba mu Kika kya Benyamiini nga Sawulo bwe yali. Baakwatanga emitego gy'obusaale n'envuumuulo, nga basobola bulungi okulasa obusaale n'okuvuumuula amayinja nga bakozesa omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono. Baali bakulirwa Ahiyezeri, ng'addirirwa Yowaasi, bombi abo nga batabani ba Semaaya ow'e Gibeya. Abaserikale abo be bano: Yeziyeeli ne Peleti batabani ba Azumaveti, Beraka ne Yeehu ow'e Anatooti. Yisumaaya Omugibiyoni, omusajja ow'amaanyi mu abo amakumi asatu era omukulembeze waabwe. Yeremiya ne Yahaziyeeli, ne Yohanaani, ne Yozabadi ow'e Gedera; Eluzaayi ne Yerimooti, ne Beyaliya, ne Semariya, ne Sefatiya ow'e Haruufu. Elukaana ne Yissiya, ne Azareeli, ne Yowezeri, ne Yasobeyaamu, abasibuka mu Koora. Yoweela ne Zebadiya, batabani ba Yerohaamu ow'e Gedori. Ne mu Kika kya Gaadi ne muvaamu abasajja ab'amaanyi abazira, abaagoberera Dawudi mu ddungu gye yali akoze ekigo ekigumu. Baali bannamagye abamanyirivu mu kulwana entalo, abamanyi okulwanyisa engabo n'amafumu, abatunuza obukambwe ng'empologoma era abasobola okudduka embiro ng'empeewo ez'oku nsozi. Be bano nga bwe baali baddiriŋŋana: abakulira yali Ezeri, amuddirira Obadiya, owookusatu Eliyaabu, owookuna Misumanno, owookutaano Yeremiya, ow'omukaaga Attayi, ow'omusanvu Eliyeeli, ow'omunaana Yohanaani, ow'omwenda Eluzabadi; ow'ekkumi Yeremiya, n'ow'ekkumi n'omu, Makubannayi. Ab'omu Kika kya Gaadi abo, be baali abakulu mu ggye, nga mu bo ow'amaanyi amatono asobola okulwanyisa abantu kikumi, ate asinga okuba ow'amaanyi, ng'asobola okulwanyisa abantu lukumi. Abo be baasomoka Omugga Yorudaani, mu mwezi ogusooka mu mwaka, mu kiseera omugga ogwo mwe gwanjaalira ku mbalama zaagwo zonna, ne bagoba abatuuze bonna ab'omu biwonvu ne babasaasaanyiza ebuvanjuba era n'ebugwanjuba w'omugga. Awo abamu ku b'omu Kika kya Benyamiini n'ekya Yuda ne bajja eri Dawudi mu kigo kye ekigumu. Dawudi n'avaayo okubasisinkana, n'abagamba nti: “Oba nga muzze lwa bulungi gye ndi okunnyamba, mbaanirizza. Naye oba nga muzze kundyamu lukwe mumpeeyo eri abalabe bange nga tewali kabi ke nkoze, Katonda wa bajjajjaffe, akirabe ababonereze.” Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Amasaayi, omukulu wa bali amakumi asatu, n'agamba nti: “Tuli babo, Dawudi. Tuli ku ludda lwo, mutabani wa Yesse! Mirembe, emirembe gibe naawe. Era gibe n'abo abakuyamba. Kubanga Katonda wo ye muyambi wo.” Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula bakulu mu ggye lye. Abamu ku batabaazi ab'omu Kika kya Manasse ne beegatta ku Dawudi, bwe yali ng'agenda awamu n'Abafilistiya mu lutalo okulwanyisa Sawulo. Kyokka Dawudi ne basajja be tebaasobola kuyamba Bafilistiya kubanga abakungu b'Abafilistiya bwe baamala okuteesa, ne bagoba Dawudi nga bagamba nti: “Yandituwaayo eri mukama we Sawulo, ne tutemwako emitwe.” Dawudi bwe yali ng'addayo e Zikulagi, ab'omu Kika kya Manasse bano ne bamwegattako: Aduna ne Yozabadi, ne Yediyayeeli, ne Mikayeli, ne Yozabadi ne Elihu, ne Zilletaayi abaaduumiranga abaserikale olukumi lukumi mu ggye ly'Abamanasse. Ne bayamba Dawudi okulwanyisa ebibinja ebyakolanga ebikwekweto, kubanga bonna bali basajja ba maanyi, abazira, era nga bakulu mu ggye. Kumpi buli lunaku abalala bajjanga eri Dawudi okumwegattako, eggye lye ne lifuuka ddene nnyo eritagambika. Gino gye miwendo gy'abo abajja eri Dawudi mu Heburooni nga bakutte ebyokulwanyisa mu ntalo, okumuyamba okufuuka Kabaka mu kifo kya Sawulo, nga Mukama bwe yagamba. Ab'omu Kika kya Yuda kaakaga mu lunaana, abaakwata engabo n'amafumu, nga beetegese okulwana olutalo. Ab'omu Kika kya Simyoni, abasajja ab'amaanyi abazira mu kulwana entalo, baali kasanvu mu kikumi. Ab'omu Kika kya Leevi baali enkumi nnya mu lukaaga. Yehoyaada eyakulembera abasibuka mu Arooni, yajja na nkumi ssatu mu lusanvu. Zaddooki omuvubuka ow'amaanyi omuzira n'ab'omu nnyumba ya kitaawe, baali abakungu amakumi abiri mu babiri. Ab'omu Kika kya Benyamiini abooluganda ne Sawulo, baali enkumi ssatu, kubanga mu kiseera ekyo abasinga obungi ku b'omu Kika ekyo baali bakyanyweredde ku b'ennyumba ya Sawulo. Ab'omu Kika kya Efurayimu baali emitwalo ebiri mu lunaana, abasajja ab'amaanyi abazira era ab'amannya mu nnyumba za bajjajjaabwe. Ab'omu kitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse baali omutwalo gumu mu kanaana, abaalondebwa okujja okufuula Dawudi Kabaka. Ab'omu Kika kya Yissakaari, abaategeera ekiseera bwe kyali ne bamanya Yisirayeli ky'egwanidde okukola, baali abakulembeze ebikumi bibiri, ne baganda baabwe bonna abagondera ebiragiro byabwe. Ab'omu Kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano abeesigwa era abamalirivu, abaatendekebwa okukozesa buli kyakulwanyisa kyonna. Ab'omu Kika kya Nafutaali baali abakulembeze lukumi, wamu n'abantu baabwe emitwalo esatu mu kasanvu, ababagalidde engabo n'amafumu. Ab'omu Kika kya Daani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga abaserikale abatendekeddwa okulwana olutalo. N'ab'omu Kika kya Aseri baali emitwalo ena, abeeteeseteese okulwana olutalo. Ab'omu Bika eby'ebuvanjuba wa Yorudaani, ekya Rewubeeni, ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, baali emitwalo kkumi n'ebiri, nga balina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri. Abaserikale abo bonna abaali batendekeddwa okulwana, ne bajja e Heburooni nga balina omutima omumalirivu okufuula Dawudi Kabaka wa Yisirayeli yonna. Era n'Abayisirayeli abalala bonna baali bamaliridde mu ngeri ye emu okufuula Dawudi Kabaka. Ne bamalayo ennaku ssatu nga bali ne Dawudi, nga balya era nga banywa ebyo ab'eggwanga lyabwe bye baali babategekedde. Abantu abaali ab'okumpi, n'abaali ab'ewala ng'ab'Ebika ekya Yissakaari, n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, ne baleeta endogoyi, eŋŋamiya, ennyumbu, n'ente nga zeetisse ebyokulya: obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ebitole by'ettiini, n'ebirimba by'emizabbibu ebikaziddwa, n'omwenge, era n'omuzigo gw'emizayiti. Ne baleeta n'ente n'endiga nnyingi ez'okutta okulya, kubanga mu Yisirayeli yonna mwalimu essanyu. Awo Kabaka Dawudi n'ateesa n'abakulu bonna mu ggye abakulira olukumi lukumi, n'abakulira ekikumi kikumi. Awo n'agamba Abayisirayeli bonna abaali mu lukuŋŋaana olwo nti: “Bwe muba ng'ekyo kye musiima, era nga ne Mukama Katonda waffe ky'ayagadde, ka tutumire baganda baffe abalala mu bitundu bya Yisirayeli byonna, ne bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe, ne mu byalo byabwe, bajje batwegatteko, tukomyewo Essanduuko y'Endagaano eya Katonda waffe, gye twali tutakyafaako mu mirembe gya Sawulo.” Bonna abaali bakuŋŋaanye ne bakisiima, kubanga baalaba nga kituufu. Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Abayisirayeli bonna, okuva ku Sihori akagga ak'oku nsalo ne Misiri, okutuuka awayingirirwa e Hamati, okuleeta Essanduuko y'Endagaano eya Katonda okugiggya e Kiriyati Yeyariimu. Awo Dawudi n'agenda n'Abayisirayeli bonna e Baala, ye Kiriyati Yeyariimu, eky'omu Buyudaaya, okukimayo Essanduuko ey'Endagaano eya Katonda, eyitibwa Erinnya lya Mukama atuula ku bakerubi. Essanduuko ya Katonda ne bagitwalira ku kigaali ekiggya nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadabu. Wuzza ne Ahiyo ne bavuga ekigaali ekyo. Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne bazina n'amaanyi gaabwe gonna mu maaso ga Katonda, nga bayimba era nga batakiza ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ensaasi, n'amakondeere. Awo bwe batuuka mu gguuliro lya Kidoni, ente ne zeesittala, Wuzza n'agolola omukono gwe n'akwata Essanduuko okugiziyiza okugwa. Mukama n'asunguwalira Wuzza oyo, n'amutta, kubanga yakwata ku Ssanduuko. Wuzza n'afiira awo mu maaso ga Katonda. Dawudi n'anyiiga, kubanga Mukama yabonereza Wuzza mu busungu n'obukambwe. Okuva olwo ekifo ekyo ne kiyitibwa Perezuzza. Ku lunaku olwo Dawudi n'atya Mukama, n'agamba nti: “Nnyinza ntya okutwala Essanduuko ya Katonda eka ewange?” Dawudi n'atagitwala wuwe mu kibuga kye, wabula n'agikyamya n'agiteeka mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu ng'eri n'ab'omu maka ge. Mukama n'awa omukisa amaka ga Obededomu ne byonna bye yalina. Awo Hiraamu Kabaka w'e Tiiro n'atumira Dawudi ababaka, n'amuweereza emiti egy'emivule, n'ababazzi, n'abazimbi b'amayinja, bazimbire Dawudi olubiri. Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Yisirayeli, kubanga obwakabaka bwe yabugulumiza ku lw'abantu be Abayisirayeli. Dawudi ng'ali eyo mu Yerusaalemu, n'awasaayo abakazi abalala, ne yeeyongera okuzaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Era gano ge mannya g'abaana, be yazaalira e Yerusaalemu: Sammuwa ne Sobabu, Natani ne Solomooni, Yibuhaari ne Elisuuwa ne Elupeleti, ne Nooga, ne Nefegi, ne Yafiya, ne Elisaama, ne Beeliyaada ne Elifeleti. Abafilistiya bwe baawulira nga Dawudi asiigiddwako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli yonna, ne bakuŋŋaana bonna ne bagenda bamunoonye. Dawudi bwe yakiwulira, n'agenda okubalwanyisa. Mu kiseera ekyo Abafilistiya baali bazze ne bazinda Ekiwonvu Refayiimu. Dawudi n'abuuza Katonda nti: “ŊŊende nnumbe Abafilistiya? Ononsobozesa okubawangula?” Mukama n'amugamba nti: “Genda, nja kukusobozesa okubawangula.” Awo Abafilistiya ne bagenda e Baali-Peraziimu, Dawudi n'abawangulira eyo. N'agamba nti: “Katonda ankozesezza, n'amenya abalabe bange, ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gumenya embibiro.” Ekifo ekyo kyebaava bakituuma Baali-Peraziimu. Abafilistiya ne baleka awo ttayo ebifaananyi byabwe bye basinza, Dawudi n'alagira basajja be bakyokye. Abafilistiya ne bakomawo nate, ne bazinda ekiwonvu. Dawudi n'addamu okubuuza Katonda. Katonda n'amugamba nti: “Tobawondera. Kyuka obaveeko, obatuukeko ng'obafuluma mu maaso g'emitugunda. Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka olumba, kubanga nze Katonda nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafilistiya.” Dawudi n'akola nga Katonda bwe yamulagira, ne bagenda nga batta ab'omu ggye ly'Abafilistiya okuva e Gibiyoni okutuuka e Gezeri. Ettutumu lya Dawudi ne libuna ensi zonna, era Mukama n'aleetera amawanga gonna okutya Dawudi. Awo Dawudi ne yeezimbira amayumba mu kibuga ekiyitibwa ekya Dawudi. N'ategekera Essanduuko ya Katonda ekifo, n'agisimbira eweema. Awo Dawudi n'agamba nti: “Tewali balala banaasitula Ssanduuko ya Katonda, wabula Abaleevi, kubanga abo Mukama be yalonda okugisitulanga n'okugirabiriranga ennaku zonna.” Awo Dawudi n'ayita Abayisirayeli bonna, ne bajja e Yerusaalemu okutwala Essanduuko ya Mukama mu kifo kye yali agitegekedde. N'ayita abasajja ab'olulyo lwa Arooni, n'Abaleevi. Ku b'omu nnyumba ya Kohati, ne wajja Wuriyeeli, ne baganda be kikumi mu abiri b'akulembera. Ku b'omu nnyumba ya Merari ne wajja Asaya ne baganda be ebikumi bibiri mu abiri b'akulembera. Ku b'omu nnyumba ya Gerusoomu, ne wajja Yoweeli ne baganda be, kikumi mu asatu b'akulembera. Ku b'omu nnyumba ya Elizafani, ne wajja Semaaya ne baganda be ebikumi bibiri b'akulembera. Ku b'omu nnyumba ya Heburooni, ne wajja Eliyeeli ne baganda be kinaana b'akulembera. Ku b'omu nnyumba ya Wuzziyeeli, ne wajja Amminadabu ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri b'akulembera. Awo Dawudi n'ayita bakabona Zaddooki ne Abiyataari, n'Abaleevi bali omukaaga: Wuriyeeli ne Asaya, ne Yoweeli, ne Semaaya, ne Eliyeeli, ne Amminadabu. N'abagamba nti: “Mmwe bakulu b'ennyumba za bajjajjammwe mu Kika kya Leevi. Mwetukuze, mmwe ne baganda bammwe, mulyoke muleete Essanduuko ya Mukama Katonda wa Yisirayeli, mu kifo kye ngitegekedde. Kubanga si mmwe mwagisitula ku mulundi ogwasooka, Mukama Katonda waffe kyeyava atubonereza mu busungu n'obukambwe, olw'obutakola nga bwe yalagira.” Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza balyoke baleete Essanduuko ya Mukama Katonda wa Yisirayeli. Ne bagisitulira ku bibegabega byabwe, ku miti kw'esitulirwa, nga Musa bwe yabalagira ng'atuukiriza ekyo Mukama kye yagamba. Dawudi n'alagira abakulu b'Abaleevi okuteekawo baganda baabwe abayimbi, bayimbe era bakube ebivuga eby'entongooli n'ennanga n'ebitaasa mu ddoboozi ery'essanyu. Awo Abaleevi ne balonda Hemani mutabani wa Yoweeli, n'omu ku baganda be: Asafu mutabani wa Berekiya, ne Etani mutabani wa Husaayi omu ku baganda baabwe ab'omu lulyo lwa Merari. Ne bateekawo ne baganda baabwe ab'okubayambako: Zekariya, Beeni ne Yaaziyeeli, ne Semiramoti, ne Yehiyeeli, ne Wunni, Eliyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattitiya, ne Elifelehu, ne Mikuneya ne Obededomu, ne Yeyeli, abaggazi. Abayimbi Hemani, Asafu, ne Etani, ne bateekebwawo okukuba ebitaasa eby'ekikomo. Zekariya, ne Aziyeeli ne Semiramoti, ne Yehiyeeli, ne Wunni, ne Eliyaabu, ne Maaseya, ne Benaaya, ne bateekebwawo, okukuba entongooli ez'eddoboozi eryawaggulu. Mattitiya, ne Elifelehu ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeli ne Azaziya, be baateekebwawo okukulemberanga ennyimba ku nnanga ez'eddoboozi eryeggunda. Kenaniya omukulu w'Abaleevi, nga bwe yali omukugu mu by'ennyimba, ye yakuliranga era ye yayigirizanga eby'ennyimba. Berekiya ne Elukaana be baali abaggazi abakuuma Essanduuko ey'Endagaano. Sebaniya ne Yosafaati ne Netaneeli, ne Amasaayi, ne Zekariya ne Benaaya ne Eliyezeeri bakabona, be baafuuwanga amakondeere mu maaso g'Essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yehiya nabo baali baggazi abaakuumanga Essanduuko eyo. Awo Kabaka Dawudi, n'abakulembeze mu Yisirayeli, n'abakulira olukumi lukumi, ne bagenda n'essanyu okukima Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, nga bagiggya mu nnyumba ya Obededomu. Ne bawaayo ekitambiro ky'ente ennume musanvu ne sseddume z'endiga musanvu, nga Katonda asobozesezza Abaleevi okusitula Essanduuko ye ey'Endagaano. Dawudi n'ayambala omunagiro ogw'olugoye olweru olulungi ennyo, era n'abayimbi ne Kenaniya omukulembeze waabwe, n'Abaleevi bonna abaasitula Essanduuko ey'Endagaano, ne bambala bwe batyo. Era Dawudi yali ayambadde n'ekkanzu ey'olugoye olweru. Bwe batyo Abayisirayeli bonna ne baleeta Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama nga baleekaana n'amaloboozi ag'essanyu, nga bafuuwa eŋŋombe n'amakondeere, era nga bakuba nnyo ebitaasa ebisaala, n'entongooli n'ennanga. Awo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yali ng'etuuka mu Kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba Kabaka Dawudi ng'azina era nga abuuka olw'essanyu, n'amunyooma mu mutima gwe. Ne bayingiza Essanduuko ya Katonda, ne bagiteeka wakati mu Weema Dawudi gye yagitegekera. Ne bawaayo eri Katonda ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyo, n'awa abantu omukisa mu linnya lya Mukama, n'agabula abantu bonna ebyokulya. N'awa buli musajja na buli mukazi mu Yisirayeli, omugaati n'ekifi ky'ennyama, n'ekitole ky'emizabbibu egikaziddwa ne gisekulibwa. Awo Dawudi n'ateekawo abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g'Essanduuko ya Mukama, okujjukiranga okwebazanga, n'okutenderezanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Asafu ye yalondebwa okuba omukulu, ng'addirirwa Zekariya. Yeyeli ne Semiramoti ne Yehiyeeli, ne Mattitiya, ne Eliyaabu, ne Benaaya, ne Obededomu ne Yeyeli, be baali abakubi b'entongooli n'ennanga. Asafu ye yakubanga ebitaasa ebivuga ennyo. Bakabona babiri Benaaya ne Yahaziyeeli be baafuuwanga bulijjo amakondeere mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano ya Katonda. Ku lunaku olwo Dawudi kwe yateerawo Asafu ne baganda be, n'abalagira okuyimbiranga Mukama okumwebaza. Mwebaze Mukama, mumukoowoole mumanyise amawanga bye yakola. Mumuyimbire, muyimbe mumutendereze, mwogere ku byamagero byonna bye yakola. Mwenyumiririze mu Ye Omutuukirivu abeesiga Mukama basanyuke. Mwesige Mukama n'amaanyi ge, mumwesigenga bulijjo. Mujjukire ebyamagero n'ebyewuunyo bye yakola era n'emisango gye yasala, mmwe ezzadde lya Yisirayeli omuweereza we, mmwe bazzukulu ba Yakobo abalondemu be. Ye Mukama Katonda waffe, ye asalawo ensonga z'ensi zonna. Mujjukire endagaano ye bulijjo, ne bye yasuubiza emirembe olukumi. Ye ndagaano gye yakola ne Aburahamu, ne bye yasuubiza Yisaaka ng'alayira n'okulayira. Ye ndagaano gye yanyweza ne Yakobo, n'eba ya lubeerera ne Yisirayeli. Yagamba nti: “Ndibawa ensi ya Kanaani. Eribeerera ddala yammwe ku bwammwe.” Mwali mukyali batono nga temunnayala era mwali batambuze mu nsi eyo, nga mutambula okuva mu nsi emu okudda mu ndala, okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala. Kyokka teyabaako gw'akkiriza kubabonyaabonya. Okubataasa, yalabula bakabaka nti: “Temukwatanga ku basiige bange, n'abalanzi bange temubakolangako kabi.” Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna Mwatule buli lunaku bwe yatulokola. Mumanyise ekitiibwa kye mu mawanga, abantu bonna bamanye ebyamagero by'akola. Kubanga Mukama mukulu, era agwanira okutenderezebwa ennyo, n'okussibwamu ekitiibwa okusinga balubaale bonna. Kubanga balubaale bonna ab'amawanga amalala, bifaananyi. Naye Mukama ye yakola eggulu. Yeetooloddwa ekitiibwa n'obukulu, obuyinza n'essanyu biri awo w'ali. Mutendereze Mukama abantu mwenna abali ku nsi. Mutendereze ekitiibwa kye era n'amaanyi ge. Musseemu Mukama ekitiibwa ekimugwanidde muleete ebiweebwayo, mujje mu maaso ge. Musinze Mukama ng'alabise. Mukankane mu maaso ge mmwe ab'omu nsi zonna. Ensi enywera n'eteyinza kusagaasagana. Eggulu ka lisanyuke era n'ensi k'ejaganye. Boogere mu mawanga nti Mukama ye Kabaka. Ennyanja n'ebigirimu, ewuume. Ennimiro ejaguze n'ebigirimu byonna. Emiti era n'ebibira olw'essanyu bireekaane mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi emisango. Kale mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna. 118:1; 136:1; Yer 33:11 Mumugambe nti: “Otulokole, ayi Katonda Omulokozi waffe, Otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga, tulyoke tukwebazenga Ggwe Omutuukirivu, era twenyumiririzenga mu kukutendereza.” Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe kaakano n'emirembe gyonna. Awo abantu bonna ne bagamba nti: “Kibe bwe kityo!” Ne batendereza Mukama. Kabaka Dawudi n'alekawo Asafu ne baganda be, bakolenga omulimu gw'obuweereza mu maaso g'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, nga bwe kyabanga kyetaagisa buli lunaku. N'alekawo ne Obededomu mutabani wa Yedutuuni, ne Hosa ne Baleevi bannaabwe nkaaga mu munaana, okuba abaggazi. N'ateekawo Zaddooki kabona ne bakabona banne mu Weema ya Mukama eyali e Gibiyoni mu kifo ekigulumivu kye baasinzizangamu, ku makya n'akawungeezi obutasalako, baweerengayo eri Mukama ku alutaari ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, nga bagoberera byonna ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama, ge yawa Eggwanga lya Yisirayeli. Awamu nabo, n'ateekawo ne Hemani ne Yedutuuni n'abalala abaalondebwa, abayatuddwa amannya gaabwe, okwebazanga Mukama olw'ekisa kye, kubanga kibeerawo emirembe gyonna. Hemani ne Yedutuuni era be baakuumanga amakondeere n'ebitaasa n'ebivuga ebirala, n'abalala bonna bye baakubanga okuyimbira Katonda. Ab'ennyumba ya Yedutuuni be baateekebwawo okuba abaggazi. Awo buli muntu n'addayo ewuwe. Dawudi naye n'addayo ewuwe okubeera n'ab'omu maka ge. Awo olwatuuka, Kabaka Dawudi bwe yamala okukkalira mu lubiri lwe, n'agamba Natani omulanzi nti: “Laba nze nsula mu nnyumba eŋŋumu era eyeekitiibwa, naye Essanduuko ya Mukama ebeera mu weema buweema.” Natani n'agamba Dawudi nti: “Kola ekikuli ku mutima, kubanga Mukama ali wamu naawe.” Naye ekiro ekyo, Katonda n'agamba Natani nti: “Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti Nze Mukama mmugamba nti: ‘Si ggwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga kubanga sibeerangako mu nnyumba okuviira ddala ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu Misiri n'okutuusa leero, wabula nabeeranga mu weema, era navanga mu kifo ekimu, ne nzira mu kifo ekirala. Mu bifo byonna gye natambulira n'Abayisirayeli bonna, ku bakulembeze be nateekawo okulabirira abantu bange, saabuuzaako n'omu nti lwaki temunzimbira nnyumba eŋŋumu era eyeekitiibwa?’ ” Mukama era n'agamba Natani nti: “Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti Nze Mukama Nnannyinimagye mmugamba nti: ‘Nakuggya ku gw'okulundanga endiga mu ttale, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli. Era nabeeranga naawe buli gye wagendanga yonna, ne mmalawo abalabe bo ng'olaba. Era ndikufuula wa ttutumu ng'abafuzi abatutumufu ennyo mu nsi. Nditegekera abantu bange Abayisirayeli ekifo, ne mbateekamu, babeerenga omwo nga kyabwe, balemenga kuddamu kutawaanyizibwa, era abantu ababi nga tebakyababonyaabonya, nga bwe gwali we nateekerawo abalamuzi okufuganga abantu bange Abayisirayeli. Era ndiwangula abalabe bo bonna. N'ekirala nze Mukama nkugamba nti ndikwaliza ezzadde. Ennaku zo bwe ziriggwaako n'ogenda eri bajjajjaabo, omu ku batabani bo, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe. Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey'obwakabaka emirembe gyonna. Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Siirekengayo kumukwatirwa kisa, nga bwe nalekayo okukikwatirwa oyo eyakusooka okuba kabaka. Ndimuteekawo okulabirira abantu bange n'obwakabaka bwange emirembe gyonna, n'entebe ye ndiginyweza ennaku zonna.’ ” Awo Natani n'abuulira Dawudi byonna nga Mukama bwe yabimugamba, era nga bwe yabimulaga. Awo Kabaka Dawudi n'ayingira mu Weema, n'atuula mu maaso ga Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nze n'ab'ennyumba yange, tetusaanidde bino byonna bye wankolera. Era n'ekyo kyali kitono mu maaso go, ayi Katonda. Oyogedde ne ku b'ezzadde lyange nze omuweereza wo, nga bwe baliba mu bbanga eggwanvu erigenda okujja, era onkuzizza, ayi Mukama Katonda, n'onfuula omuntu oweekitiibwa ennyo. Kiki ate ekirala nze Dawudi omuweereza wo, kye nnyinza okukugamba olw'ekitiibwa ky'onzisizzaamu? Kubanga ommanyi nze omuweereza wo. Ayi Mukama, onkoledde ebintu bino byonna ebikulu nga Ggwe weeyagalidde, n'ommanyisa ebintu ebyo byonna ebikulu. Ayi Mukama, tewali akwenkana, era tetuwulirangako nga waliwo Katonda omulala okuggyako Ggwe. Era ggwanga ki eddala eriri ku nsi, eriri ng'ery'abantu bo Abayisirayeli, Ggwe Katonda be wagenda okwenunulira okuba eggwanga eriryo ku bubwo! Ebintu ebikulu era eby'entiisa bye wabakolera, byayatiikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala, ne basegulira abantu bo, be wanunula n'obaggya mu Misiri. Abayisirayeli wabafuula abantu bo emirembe gyonna, era naawe Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe. “Kale nno, ayi Mukama, nywezanga ennaku zonna ky'osuubizza nze omuweereza wo n'ab'ennyumba yange, era okole nga bw'ogambye. Kale kinywezebwe, olyoke ogulumizibwenga emirembe gyonna, nga bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye, ye Katonda wa Yisirayeli era ye alabirira Yisirayeli!’ Era onyweze mu maaso go ab'ennyumba yange, nze Dawudi omuweereza wo. Ayi Katonda wange, nze omuwereza wo ŋŋumye okwegayirira bwe ntyo mu maaso go, kubanga ombikkulidde nze omuweereza wo, ng'ab'ennyumba yange olibafuula bakabaka. Era ggwe, ayi Mukama, ggwe Katonda, era osuubizza nze omuweereza wo ebintu ebyo ebirungi. Era kaakano osiimye okuwa omukisa ab'ennyumba yange nze omuweereza wo, beeyongere okuganja mu maaso go ennaku zonna, kubanga Ggwe, ayi Mukama, obawadde omukisa, era gubaweereddwa emirembe gyonna.” Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Dawudi n'alwanyisa Abafilistiya n'abawangula, n'aggya mu mikono gyabwe Ekibuga Gaati n'obubuga obukyetoolodde. N'awangula n'ensi Mowaabu, Abamowaabu ne bafuuka abaddu be ne bamuwanga omusolo. Dawudi n'awangula ne Hadadezeri Kabaka w'e Zoba, ekiri okumpi ne Hamati, Hadadezeri oyo bwe yali ng'agenda okunyweza obufuzi bwe mu kitundu ekiriraanye Omugga Ewufuraate. Dawudi n'amuwambako amagaali lukumi, n'abaserikale kasanvu abeebagala embalaasi, n'abalala emitwalo ebiri ab'ebigere. Embalaasi zonna ezisika amagaali, Dawudi n'azitema enteega okuggyako ezo zokka ezimala okusika amagaali ekikumi. Abasiriya ab'e Damasiko bwe bajja okuddukkirira Hadadezeri Kabaka w'e Zoba, Dawudi n'abattamu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, ensi yaabwe n'agiteekamu enkambi z'abaserikale, Abasiriya ne bafuuka abaddu be, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga. Dawudi n'anyaga engabo za zaabu abaweereza ba Hadadezeri ze baalina, n'azitwala e Yerusaalemu. Ne mu bibuga Tibuhati ne Kuuni ebyafugibwanga Hadadezeri, Dawudi n'aggyamu ekikomo kingi nnyo. Ekikomo ekyo, Solomooni kye yakozesa ogutanka, n'empagi, n'ebintu ebirala eby'ekikomo. Toowu kabaka w'e Hamati bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Hadadezeri Kabaka w'e Zoba, n'atuma mutabani we Hadoraamu eri Kabaka Dawudi okumulamusa n'okumukulisa okulwanyisa Hadadezeri n'amuwangula. Hadadezeri oyo yali mulabe wa Toowu. Hadoraamu n'aleetera Dawudi ebirabo ebya buli ngeri, omwali ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ekikomo. N'ebyo Kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu gwe yanyaga mu mawanga gonna: Edomu ne Mowaabu, mu Baamori n'Abafilistiya, ne mu Amaleki. Awo Abisaayi mutabani w'omukazi ayitibwa Zeruyiya, n'attira mu Kiwonvu ky'Omunnyo Abeedomu lukumi mu lunaana. N'ateeka enkambi z'abaserikale mu Edomu. Abeedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga yonna. Dawudi n'afuga Yisirayeli yonna, era n'akulemberanga abantu be mu mazima n'obwenkanya. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w'eggye ow'oku ntikko. Yehosafaati mutabani wa Ahiluudi ye yawandiikanga ebyagwangawo. Zaddooki mutabani wa Ahituubu, ne Abimeleki mutabani wa Abiyataari, be baali bakabona, Savusa ye yali omuwandiisi. Benaaya mutabani wa Yehoyaada ye yali akulira abakuumi ba Dawudi Abakereti n'Abapeleti. Bo batabani ba Dawudi, be baali abakungu ababeera kabaka ku lusegere. Awo ebyo bwe byaggwa, Kabaka Nahasi ow'Abammoni n'afa, mutabani we Hanuni n'amusikira ku bwakabaka. Dawudi n'agamba nti: “Ŋŋenda okulaga Hanuni mutabani wa Nahasi ekisa, nga kitaawe bwe yandaga ekisa.” Dawudi n'atuma ababaka okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaweereza ba Dawudi ne batuuka ewa Hanuni mu nsi y'Abammoni okumukubagiza. Kyokka abakulembeze b'Abammoni ne bagamba Hanuni nti: “Olowooza Dawudi okukutumira ab'okukukubagiza, ddala aba assaamu kitaawo kitiibwa? Abaweereza be bazze kwetegereza n'okuketta ensi, asobole okugiwamba.” Awo Hanuni n'akwata abaweereza ba Dawudi, n'abamwako ebirevu, n'asalira ebyambalo byabwe wakati okukoma mu butuuriro bwabwe, n'abasiibula. Abantu abamu ne babuulira Dawudi ebikoleddwa ku basajja abo. N'atuma abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti: “Mugira musigala e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.” Kabaka Hanuni n'Abammoni bwe baalaba nga beekyayisizza Dawudi, ne basasula talanta lukumi eza ffeeza, okupangisa amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotaamiya ne mu Maaka ekya Siriya, ne mu Zoba. Ne bapangisa amagaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri, ne kabaka w'e Maaka n'abantu be. Abo ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abammoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe, ne beetegeka okulwana. Dawudi bwe yakiwulira, n'aweereza Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi. Abammoni ne bafuluma, ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu, ate bakabaka abajja, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale. Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Yisirayeli abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasiriya. Abalala bonna abaasigalawo n'abakwasa Abisaayi muganda we, ne beetegeka okwolekera Abammoni. N'agamba Abisaayi nti: “Abasiriya bwe banansinza amaanyi, onojja n'onnyamba. Naye Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, najja ne nkuyamba. Ddamu amaanyi, tulwane masajja ku lw'abantu baffe ne ku lw'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.” Yowaabu ne basajja be ne basembera okulwanyisa Abasiriya, Abasiriya ne badduka. Abammoni bwe baalaba ng'Abasiriya badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne baddayo mu kibuga. Awo Yowaabu n'addayo e Yerusaalemu. Abasiriya bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasiriya abaali emitala w'Omugga Ewufuraate, ne Sofaki Omuduumizi w'eggye lya Hadadezeri nga ye mugabe. Dawudi bwe baamubuulira n'akuŋŋaanya eggye lya Yisirayeli lyonna, n'asomoka Omugga Yorudaani, n'abatuukako, ne yeetegeka okubalwanyisa. Awo Dawudi bwe yamala okwetegeka okulwanyisa Abasiriya, Abasiriya abo ne bamulwanyisa. Abasiriya, ne badduka Abayisirayeli. Dawudi n'atta mu Basiriya abasajja kasanvu abavuzi b'amagaali, n'abasajja emitwalo ena ab'ebigere n'atta ne Sofaki omuduumizi w'eggye. Abaweereza ba Hadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne bakola endagaano ey'emirembe ne Dawudi, ne bafuuka baddu be. Awo Abasiriya ne batakkiriza kuyamba Bammoni mulundi mulala. Awo olwatuuka, mu kiseera ky'omwaka bakabaka mwe bagendera okulwana entalo, Yowaabu n'akulembera eggye ery'amaanyi, n'azinda ensi y'Abammoni. Kyokka kabaka Dawudi n'asigala e Yerusaalemu. Yowaabu n'azingiza Ekibuga Rabba, n'akirumba n'akizikiriza. Dawudi n'aggya engule ku mutwe gw'ekifaananyi kya Lubaale Moleki ow'Abammoni. Engule eyo yali ya zaabu, ng'ezitowa kilo ng'amakumi asatu mu nnya era ng'erimu amayinja ag'omuwendo ennyo. Dawudi n'agaggyamu n'agateeka mu ngule eyiye. Dawudi n'anyaga n'ebintu ebirala bingi mu kibuga ekyo. Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abammoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemu. Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo olutalo e Gezeri wakati w'Abayisirayeli n'Abafilistiya. Sibbekaayi ow'e Huusa n'atta Sippayi, omu ku bazzukulu b'omusajja omuwagguufu. Abafilistiya ne bawangulwa. Ne wabaawo olutalo olulala n'Abafilistiya. Eluhanani mutabani wa Yayiri n'atta Lahumi muganda wa Goliyaati Omugitti, ng'olunyago lw'effumu lye lunene okwenkana omuti ogulukirwako engoye. Era ne wabaawo olutalo olulala e Gaati, nga lulimu omusajja omuwagguufu eyalina engalo mukaaga ku buli kibatu, n'obugere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu amakumi abiri mu bina, engalo n'obugere. Omusajja oyo naye yali muzzukulu wa musajja oli omuwagguufu. Awo bwe yasoomoza Abayisirayeli, Yonataani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi, n'amutta. Abo baali bazzukulu ba musajja omuwagguufu ow'e Gaati, era battibwa Dawudi ne basajja be. Awo Sitaani n'asituka okuleetera Abayisirayeli emitawaana, n'asendasenda Dawudi okubabala. Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulembeze b'abantu nti: “Mugende mu Yisirayeli, okuva e Beruseba okutuuka e Daani, mubale abantu, mukomewo muntegeeze we benkana obungi.” Yowaabu n'agamba nti: “Mukama ayaze abantu be, beeyongere obungi emirundi kikumi. Mukama wange Kabaka, bonna bantu bo, ayi Ssaabasajja. Naye lwaki oyagala okukola ekyo, ekinaaleetera Yisirayeli yonna omusango?” Naye Yowaabu n'awalirizibwa okukola ekyo kabaka kye yalagira. N'agenda n'atalaaga Yisirayeli yonna, n'alyoka akomawo e Yerusaalemu. Yowaabu n'aleetera Kabaka Dawudi omuwendo gw'abantu ogwabalibwa. Abasajja bonna mu Yisirayeli abasobola okulwana mu lutalo, baali akakadde kamu mu emitwalo kkumi, ne mu Buyudaaya baali emitwalo amakumi ana mu musanvu. Naye olw'okuba nga Yowaabu ekiragiro kya Kabaka teyakisiima, ab'omu Bika ekya Leevi n'ekya Benyamiini teyababaliramu. Katonda n'anyiiga olw'ekyo ekyakolebwa, kyeyava abonereza Yisirayeli. Dawudi n'agamba Katonda nti: “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze. Naye kaakano nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange nze omuweereza wo, kubanga nkoze kya busirusiru nnyo.” Awo Mukama n'agamba Gaadi omulanzi wa Dawudi nti: “Genda ogambe Dawudi nti: ‘Mukama agamba nti akuteereddewo ebintu bisatu, olondeko kimu ky'aba akukolako.’ ” Awo Gaadi n'agenda eri Dawudi, n'amugamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Werobozeeko ky'oyagala: oba emyaka esatu egy'enjala, oba emyezi esatu ng'oyigganyizibwa abalabe bo mu ntalo, oba ennaku ssatu nga Mukama akulumba n'ekitala kye, asindike kawumpuli mu nsi yo, malayika wa Mukama agende ng'atta abantu mu Yisirayeli yonna. Lowooza olabe kye nnaddiza oyo antumye.’ ” Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Nsobeddwa nnyo. Wabula ka mbonerezebwe Mukama, kubanga ye alina okusaasira kungi, naye nneme kubonerezebwa bantu.” Awo Mukama n'asindika kawumpuli mu Yisirayeli, ne mufaamu abantu emitwalo musanvu. Awo Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemu okukizikiriza. Bwe yali ng'anateera okukizikiriza, Mukama n'akitunuulira, ne yeddamu olw'akabi ako, n'agamba malayika azikiriza nti: “Kinaamala, kaakano lekera awo okubonereza.” Malayika yali ayimiridde awali egguuliro lya Orunaani Omuyebusi. Dawudi bwe yayimusa amaaso n'alaba malayika wa Mukama, ng'ayimiridde mu bbanga, wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte mu ngalo ze ekitala ekisowoddwa, ng'akigolodde ku Yerusaalemu. Dawudi n'abakulembeze b'abantu, ne bavuunama amaaso gaabwe okutuuka ku ttaka nga bambadde ebikutiya. Dawudi n'agamba Katonda nti: “Nze nalagira okubala abantu. Nze nnyonoonye ne nkola ekibi ekinene ennyo, naye abantu bano bakoze ki? Nkwegayiridde ayi Mukama Katonda wange, bonereza nze, n'ab'ennyumba ya kitange, owonye abantu bo kawumpuli!” Malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, agende azimbire Mukama alutaari, mu gguuliro lya Orunaani Omuyebusi. Dawudi n'agenda, nga Gaadi bwe yamugamba mu linnya lya Mukama. Orunaani yali mu gguuliro ne batabani be abana ng'awuula eŋŋaano. Bwe yakyuka n'alaba malayika, abatabani ne beekweka. Orunaani bwe yalengera Kabaka Dawudi ng'ajja gy'ali, n'ava mu gguuliro, n'amuvuunamira. Dawudi n'amugamba nti: “Nguza ekibanja ky'egguuliro lino, nkisasule omuwendo gwennyini ogukigyamu, nzimbirewo Mukama alutaari, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.” Orunaani n'amuddamu nti: “Mukama wange Kabaka, ekibanja kitwale okole nga bw'onoosiima. N'ente ziizo, nzikuwadde zibe ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiwuula bibe enku, n'eŋŋaano ebe ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Byonna mbikuwa buwa.” Kabaka Dawudi n'agamba Orunaani nti “Nedda, nja kubigula omuwendo gwennyini ogubigyamu, kubanga siitoole bibyo okuwa Mukama, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa kye sitooledde kantu na kamu” Awo Dawudi n'asasula Orunaani Sekeli lukaaga eza zaabu okugula ekibanja ekyo. Dawudi n'azimbirayo Mukama alutaari, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amuddamu ng'asindika omuliro ku alutaari nga guva mu ggulu. Mukama n'alagira malayika, malayika n'azza ekitala kye mu kiraato kyakyo. Awo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu ky'amusabye ng'ali mu gguuliro lya Orunaani, n'aweerangayo ebitambiro mu kifo ekyo. Eweema ya Mukama, Musa gye yakolera mu ddungu, ne alutaari okwayokerwanga ebitambiro, mu kiseera ekyo byali bikyali mu kifo ekigulumivu kye baasinzizangamu e Gibiyoni, kyokka Dawudi nga tayinza kugendayo okusinza Katonda, kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama. Awo Dawudi n'agamba nti: Eno kye Kisulo Kya Mukama Katonda, era eno ye alutaari Abayisirayeli kwe banaayokeranga ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba. Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya abagwira bonna abaali mu nsi ya Yisirayeli. N'alondamu, ab'okwasa amayinja n'okugakomola okuzimba Essinzizo. N'ategeka ebyuma bingi eby'okuweesaamu emisumaali n'embaati eby'okugatta enzigi ez'emiryango eminene, n'eby'okuyunga ebintu eby'okukozesa mu kuzimba. N'ategeka n'ekikomo kingi, ekitaasobola na kupimibwa, era n'emiti mingi nnyo egy'emivule egitaasobola kubalibwa, abantu b'e Sidoni n'e Tiiro gye baamuleetera. Dawudi yagamba nti: “Essinzizo erigenda okuzimbirwa Mukama ligwana okuba eryekitiibwa ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna. Naye mutabani wange Solomooni agenda okulizimba, akyali mwana muto, kyenva nditegekera eby'okulizimbisa.” Bw'atyo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannafa. N'ayita Solomooni mutabani we, n'amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo. Dawudi n'amugamba nti: “Mwana wange, nayagala okuzimbira Mukama Katonda wange Essinzizo okumussaamu ekitiibwa. Kyokka Mukama n'aŋŋaana ng'agamba nti: ‘Walwana entalo nnyingi, n'otta abantu bangi. Kale olw'omusaayi omungi gwe wayiwa nga ndaba, tojja kunzimbira Ssinzizo. Wabula olizaala omwana ow'obulenzi, aliba omuntu ow'emirembe, kubanga ndimuwa emirembe, n'ataba na balabe ku njuyi zonna. Erinnya lye aliba Solomooni, kubanga mu bufuzi bwe ndiwa Yisirayeli emirembe n'obutebenkevu. Oyo ye alinzimbira Essinzizo. Aliba mwana wange, nze ne mba kitaawe. Era ndinyweza entebe y'obwakabaka bwe mu Yisirayeli emirembe gyonna.’ Kale mwana wange, Mukama, Katonda wo abeere naawe, akuwe omukisa osobole okumuzimbira Essinzizo nga bwe yayogera ebifa ku ggwe. Ekikulu, Mukama Katonda wo akuwe amagezi n'okutegeera, osobole okufuganga Yisirayeli ng'ogoberera Amateeka ge. Bw'onoogonderanga Amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa Yisirayeli ng'ayita mu Musa, ebintu byonna binaakugenderanga bulungi. Beera muvumu, ogume omwoyo, totya, era teweeraliikirira. Laba nze nfubye nga bwe nsobola ne ntegekera Essinzizo talanta emitwalo kkumi eza zaabu, ne talanta akakadde kamu eza ffeeza, n'ekikomo n'ekyuma, ebitapimika olw'obungi bwayo. Era ntegese n'emiti n'amayinja. Naawe ku ebyo kw'olyongereza ebirala. Era olinawo abakozi bangi nnyo: abayasa amayinja n'abo abagazimbisa, n'ababazzi, n'abalala abalina amagezi n'obumanyirivu okukola emirimu egya buli ngeri, abatabalika bungi, nga bakozesa zaabu ne ffeeza n'ekikomo n'ekyuma. Situka otandike omulimu, era Mukama abeere naawe.” Dawudi n'alagira abakulembeze bonna aba Yisirayeli okuyamba Solomooni mutabani we. N'agamba nti: “Mukama Katonda wammwe ali wamu nammwe, era abawadde emirembe ku njuyi zonna. Yansobozesa okuwangula abantu ababeera mu nsi eno, ne bagondera Mukama era nammwe abantu be. Kale kaakano Mukama Katonda wammwe mumuweereze n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna. Musituke mutandike okuzimba Essinzizo, musobole okuteekamu Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'ebintu ebirala byonna ebitukuvu ebikozesebwa mu kumusinza, bibeerenga mu Ssinzizo erigenda okumuzimbirwa.” Dawudi bwe yawangaala ennyo n'akaddiwa, n'afuula mutabani we Solomooni kabaka wa Yisirayeli. Kabaka Dawudi n'akuŋŋaanya abakulembeze bonna aba Yisirayeli, ne bakabona, n'Abaleevi. Abasajja Abaleevi bonna ab'emyaka amakumi asatu n'okusingawo, ne babalibwa kinnoomu, ne bawera emitwalo esatu mu kanaana. Ku abo, emitwalo ebiri mu enkumi nnya, kabaka n'abawa gwa mu Ssinzizo kya Mukama, akakaaga n'abawa gwa bwami n'obulamuzi, enkumi nnya gwa buggazi. N'abalala enkumi nnya n'abawa gwa kutenderezanga Mukama nga bakozesa ebivuga kabaka bye yateekawo olw'omulimu ogwo. Dawudi n'agabanya mu Baleevi ebibinja bisatu, nga batabani ba Leevi bwe baali Gerusooni, Kohati ne Merari. Ab'omu lulyo lwa Gerusooni: Laadani ne Simeeyi. Laadani yalina abatabani basatu: Yehiyeeli nga ye mukulu, ne Zetamu, ne Yoweeli. Batabani ba Simeeyi baali basatu: Selomoti, ne Haziyeeli, ne Harani. Abo be baali abakulu b'ennyumba ez'abasibuka mu Laadani. Batabani ba Simeeyi baali: Yahati, Ziina, ne Yewusi, ne Beriya. Abo abana be baali batabani ba Simeeyi. Yahati ye yali omukulu, Ziiza ye yali owookubiri. Kyokka Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi, kyebaava babalibwa ng'ennyumba emu eyoobujjajja. Batabani ba Kohati baali bana: Amuraamu, Yizuhaari, Heburooni ne Wuzziyeeli. Batabani ba Amuraamu: Arooni ne Musa. Arooni n'ayawulibwa n'abaana ab'obulenzi ab'ezzadde lye, okulabiriranga emirembe gyonna ebintu ebitukuvu ennyo, okwoterezanga Mukama obubaane, okumuweerezanga, n'okuwanga abantu omukisa mu linnya lye. Naye batabani ba Musa omusajja wa Katonda, baabalirwa mu Baleevi. Batabani ba Musa: Gerusoomu ne Eliyezeeri. Omukulu mu batabani ba Gerusoomu yali Sebweli. Eliyezeeri yalina mutabani we omu yekka Rehabiya, kyokka batabani ba Rehabiya ne baba bangi nnyo. Mu batabani ba Yizuhaari, Selomiti ye yali omukulu. Mu batabani ba Heburooni, Yeriya ye yali omukulu, Amariya ye yali owookubiri, Yahaziyeeli ye yali owookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna. Mu batabani ba Wuzziyeeli Mikka ye mukulu, ate Yissiya ye wookubiri. Batabani ba Merari baali Mahuli ne Muusi. Batabani ba Mahuli baali Eleyazaari ne Kiisi. Eleyazaari n'afa nga talina baana ba bulenzi wabula ab'obuwala bokka, ne bafumbirwa bannyinaabwe batabani ba Kiisi, kitaabwe omuto. Batabani ba Muusi baali basatu: Mahuli, ne Ederi ne Yeremooti. Abo be b'omu Kika kya Leevi, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, era nga be bakulira ab'ennyumba ezo, omwali abasajja abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abaabalibwa kinnoomu, ne bawandiikibwa amannya gaabwe, nga be b'okukola omulimu ogw'okuweereza mu Ssinzizo kya Mukama. Kubanga Dawudi yagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli awadde abantu be emirembe, era naye yennyini anaabeeranga mu Yerusaalemu emirembe gyonna. N'olwekyo Abaleevi tekikyabeetaagisanga kusitula Eweema ya Mukama n'ebintu ebikozesebwa mu yo.” Olw'ebyo Dawudi bye yasembyayo okulagira, Abaleevi abawezezza emyaka amakumi abiri oba okusingawo, be baawandiikibwanga ku nkalala z'abanaakolanga omulimu ogw'okuyamba bakabona ab'olulyo lwa Arooni mu byonna ebikwata ku buweereza mu Ssinzizo kya Mukama Katonda: okulabirira empya zaalyo era n'ebisenge; okukuuma buli kintu ekitukuvu, kireme kujaajaamizibwa; okulabirira ebikwata ku migaati egiweebwayo eri Mukama, obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, ebiweebwayo ebisiikibwa, n'obuwunga obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti; n'okupima obuzito n'obunene bw'ebiweebwayo mu Ssinzizo. Baalina okuberangawo okwebaza Mukama n'okumutendereza buli nkya n'akawungeezi, n'okuwangayo eri Mukama ebiweebwayo byonna ebyokebwa nga biramba, ku Sabbaato, ne ku buli kuboneka kwa Mwezi, ne ku nnaku endala enkulu ezaateekebwawo. Ebyo byonna Abaleevi baabikolanga mu maaso ga Mukama obutayosa, nga baweza omuwendo gwabyo nga bwe gwalagirwa. Baakwasibwa okulabiriranga Eweema, n'Ekifo Ekitukuvu, nga bayamba ku baganda baabwe bakabona ab'olulyo lwa Arooni okuweerezanga mu Ssinzizo kya Mukama. Ab'olulyo lwa Arooni baali bagabanyizibwamu bwe bati: Batabani ba Arooni be bano: Nadabu ne Abihu ne Eleyazaari, ne Yitamaari. Kyokka Nadabu ne Abihu be ne baasooka kitaabwe okufa, era baafa nga tebalina baana. Kale Eleyazaari ne Yitamaari ne ne baba bakabona. Kabaka Dawudi wamu ne Zaddooki asibuka mu Eleyazaari, ne Ahimeleki asibuka mu Yitamaari, ne baawulamu bakabona ebibinja bye banaakolerangamu emirimu gyabwe. Mu basibuka mu Eleyazaari mwasangibwamu abasajja abakulu bangi okusinga ku abo abasibuka mu Yitamaari. N'olwekyo abasibuka mu Eleyazaari ne baawulwamu ennyumba kkumi na mukaaga eza bajjajjaabwe, n'abasibuka mu Yitamaari ne baawulwamu ennyumba munaana eza bajjajjaabwe. Nga bwe waaliwo abakulira Essinzizo n'abakulira eby'okusinza ku njuyi zombi: olw'abasibuka mu Eleyazaari n'olw'abasibuka mu Yitamaari, emirimu gyonna gyagabibwanga nga bakuba bululu. Oluwalo olumu lwalonderwanga ab'ennyumba emu ey'abasibuka mu Eleyazaari, n'olulala ne lulonderwa ab'ennyumba emu ey'abasibuka mu Yitamaari, Semaaya omuwandiisi era omu ku Baleevi, mutabani wa Netaneeli, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka, n'abakungu, ne Zaddooki kabona, ne Ahimeleki mutabani wa Abiyataari, n'abakulu b'ennyumba za bajjajja ba bakabona n'Abaleevi. Awo akalulu akasooka ne kalonda Yehoyaribu, akookubiri Yedaaya; akookusatu Harimu, akookuna Seyoriimu; akookutaano Malukiya, ak'omukaaga Miyamini; ak'omusanvu Hakkozi, ak'omunaana Abiya; ak'omwenda Yesuwa, ak'ekkumi Sekaniya; ak'ekkumi n'akamu Eliyasibu; n'ak'ekkumi n'obubiri Yakimu; ak'ekkumi n'obusatu Huppa, ak'ekkumi n'obuna Yesebeyaabu; ak'ekkumi n'obutaano Biluga, ak'ekkumi n'omukaaga Yimmeri; ak'ekkumi n'omusanvu Heziri, ak'ekkumi n'omunaana Happizzeezi; ak'ekkumi n'omwenda Petahiya, ak'amakumi abiri Yehezukeeli; ak'abiri mu kamu Yakini, ak'abiri mu bubiri Gamuli; ak'abiri mu busatu Delaaya, ak'abiri mu buna Maaziya. Eyo ye ngeri gye baatereezebwamu okujjanga mu Ssinzizo kya Mukama okukola omulimu gw'obuweereza bwabwe, obwabateerwawo jjajjaabwe Arooni, nga Mukama Katonda wa Yisirayeli bwe yamulagira. Bano be bakulu b'ennyumba z'abalala abasibuka mu Leevi: ku basibuka mu Amuraamu, Subayeeli; ku basibuka mu Subayeeli, Yedeya. Aba Rehabiya, mutabani we Yissiya ye mukulu. Ku Bayizuhaari, Selomoti; ku basibuka mu Selomoti, Yahati. Ate batabani ba Heburooni, omukulu Yeriya, owookubiri Amariya, owookusatu Yahaziyeeli, n'owookuna Yekameyamu. Mutabani wa Huzziyeeli: Mikka; mutabani wa Mikka, Samiri. Muganda wa Mikka: Yissiya; ku batabani ba Yissiya, Zekariya. Abasibuka mu Merari: Mahuli, ne Muusi, ne batabani ba Yaaziya. Bazzukulu ba Merari abazaalibwa Yaaziya: Beno, ne Sohamu, ne Zakkuri, ne Yiburi. Ku basibuka mu Mahuli: Eleyazaari ataazaala baana ba bulenzi. Ku basibuka mu Kiisi, mutabani we Yerameeli. Ate batabani ba Muusi: Mahuli, ne Ederi, ne Yerimooti. Abo be basibuka mu Leevi nga bwe baali mu nnyumba za bajjajjaabwe. Era ne bano ne bakola nga baganda baabwe abasibuka mu Arooni bwe baakola, buli mukulu wa nnyumba ya bajjajjaabwe ne muto we, ne bakuba obululu mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zaddooki ne Ahimeleki, n'ag'abakulu b'ennyumba za bakabona n'Abaleevi. Dawudi n'abakulira eby'okusinza ne balonda ku batabani ba Asafu n'aba Hemani n'aba Yedutuuni ab'okulangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimbira ku nnanga n'entongooli n'ebitaasa. Abaalondebwa okukola omulimu ogwo be bano: ku batabani ba Asafu: Zakkuri, ne Yosefu, ne Netaniya, ne Asareela. Asafu ye yakulemberanga batabani be abo, ne balangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimba, nga Kabaka alagidde. Ku ba Yedutuuni, batabani be mukaaga: Gedaliya ne Zeri, ne Yesaaya, ne Simeeyi, ne Hasabiya ne Mattitiya. Nga bakulemberwa kitaabwe oyo Yedutuuni, baalangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimba ennyimba ez'okumwebaza n'okumutendereza, nga bakubirako n'ennanga. Ku ba Hemani, batabani be: Bukkiya, Mattaniya, Wuzziyeeli, Sebweli, ne Yerimooti, Hananiya, Hanani, Eliyaata, Giddaluti, Romamutiyezeri, Yosubekasa, Malloti, Hotiri, Mahaziyooti. Abo bonna baali batabani ba Hemani abamuweesa ekitiibwa. Hemani oyo ye yali omuwabuzi wa kabaka mu bifa ku Katonda. Katonda yawa Hemani oyo abaana ab'obulenzi kkumi na bana, n'aboobuwala basatu. Abo bonna baakulemberwanga kitaabwe mu nnyimba ez'omu Ssinzizo lya Mukama nga bakuba ebitaasa n'entongooli n'ennanga mu mikolo egy'okusinza Katonda, nga kabaka bwe yabanga alagidde Asafu, Yedutuuni ne Hemani. Abo bonna wamu ne Baleevi bannaabwe abaali batendekeddwa mu kuyimbira Mukama, bonna awamu abaali bakuguse, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana. Bonna abakulu n'abato, abakugu n'abayiga, bakubirwanga bululu okulondebwa okuweebwa emirimu. Akalulu akasooka, ku ba Asafu, kaalonda Yosefu. Akookubiri ne kalonda Gedaliya. Ye ne baganda be ne batabani be, baali kkumi na babiri. Akookusatu ne kalonda Zakkuri ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Akookuna kaalonda Yizuri ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Akookutaano ne kalonda Netaniya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'omukaaga ne kalonda Bukkiya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'omusanvu kaalonda Yesareela ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'omunaana ne kalonda Yesaaya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'omwenda kalonda Mattaniya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'ekkumi ne kalonda Simeeyi ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'akamu kaalonda Azareeli ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'obubiri ne kalonda Hasabiya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'obusatu kaalonda Subayeeli ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri, ak'ekkumi n'obuna ne kalonda Mattitiya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'obutaano kaalonda Yeremooti ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri, ak'ekkumi n'omukaaga ne kalonda Hananiya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'omusanvu kaalonda Yesubekasa ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri, ak'ekkumi n'omunaana ne kalonda Hanani ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'omwenda kaalonda Malloti ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri, ak'amakumi abiri ne kalonda Eliyaata ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'amakumi abiri mu kamu kaalonda Hotiri ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri, ak'amakumi abiri mu bubiri ne kalonda Giddaluti ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'amakumi abiri mu busatu ne kalonda Mahaziyooti ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Ak'amakumi abiri mu buna ne kalonda Romamutiyezeri ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri. Bano be baali abaggazi b'Essinzizo ku basibuka mu Koora, waaliwo Meselemiya mutabani wa Koore ow'omu nnyumba ya Asafu. Meselemiya oyo yalina abaana ab'obulenzi, be bano: Zekariya, omuggulanda; Yediyeeli ye wookubiri, owookusatu Zebadiya, owookuna Yatuniyeeli, owookutaano Elamu, ow'omukaaga Yehohanani, ow'omusanvu Eliyehowenayi. Waaliwo ne Obededomu, yalina abaana ab'obulenzi, be bano: Semaaya omuggulanda, Yehozabaadi ye wookubiri; owookusatu Yowa, ne Sakari owookuna, ne Netaneeli owookutaano, Ammiyeeli ow'omukaaga, Yissakaari ow'omusanvu, n'ow'omunaana Pewulletayi. Bw'atyo Katonda bwe yawa Obededomu omukisa. Ne mutabani we Semaaya n'azaala abaana ab'obulenzi abaali abafuzi mu nnyumba ya bajjajjaabwe, kubanga baali basajja ba maanyi abazira. Batabani ba Semaaya abo be bano: Otuni ne Refayeeli, ne Obedi, ne Eluzabadi, ne baganda baabwe Elihu ne Semakiya, abasajja abazira. Abo bonna baali basibuka mu Obededomu, bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe nga basajja ab'amaanyi era abakozi b'emirimu. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri. Meselemiya yalina abatabani n'abooluganda, abasajja abazira, kkumi na munaana. Ku basibuka mu Merari, waaliwo Hosa. Yalina abaana ab'obulenzi be bano: Simuri, kitaawe gwe yafuula omukulu, newaakubadde nga si ye yali omuggulanda. Owookubiri yali Hilukiya, owookusatu Tebaliya, n'owookuna Zekariya. Batabani ba Hosa bonna ne baganda be baali kkumi na basatu. Abaggazi baayawulwamu ebibinja ebyo, ne baweebwanga empalo ez'okuweereza mu Ssinzizo kya Mukama, nga bagoberera abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, nga bwe kyabanga ku Baleevi bannaabwe abalala. Buli mulyango baagukubiranga kalulu okulaba abanaagukuuma, ka babe bangi oba batono mu nnyumba ya bajjajjaabwe. Akalulu ak'okukuuma omulyango ogw'ebuvanjuba ne kalonda Selemiya. Ne Zekariya mutabani we omuteesa ow'amagezi ne bamukubira akalulu, ne kamulondera omulyango ogw'omu bukiikakkono. Obededomu n'alonderwa gwa mu bukiikaddyo, batabani be ne baweebwa kukuuma ggwanika. Suppimu ne Hosa, ne baweebwa Omulyango ogw'Ebugwanjuba n'omulyango Salleketi, ku luguudo olwambuka, nga bakuuma batunuuliganye. Oludda olw'ebuvanjuba lwakuumibwanga Abaleevi mukaaga buli lunaku, olw'ebukiikakkono bana, n'olw'obukiikaddyo bana buli lunaku, n'eggwanika babiri babiri. Okuliraana olukuubo olw'ebugwanjuba, waaliwo abakuumi babiri. Ebyo bye bibinja abaggazi, abasibuka mu Koora n'abasibuka mu Merari bye baagabanyizibwamu. Ku Baleevi, Ahiha ye yali omukulu w'eggwanika ly'Essinzizo era ow'amaterekero g'ebintu ebiwongebwa. Ab'ezzadde lya Laadani, abasibuka mu Gerusooni nga bayita mu Laadani, abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'ab'olulyo lwa Laadani oyo Omugerusooni, baali Yehiyeeli, batabani ba Yehiyeeli oyo: Zetamu ne Yoweeli muganda we. Abo be baali abakulu b'amawanika g'Essinzizo. Mu basibuka mu Amuraamu ne Yizuhaari ne Heburooni, ne Wuzziyeeli, Sebweli mutabani wa Gerusooni, Gerusooni mutabani wa Musa, ye yali omukulu w'amawanika. Sebweli oyo yalina oluganda ku basibuka mu Eliyezeeri muganda wa Gerusooni. Eliyezeeri ye yazaala Rehabiya, Rehabiya n'azaala Yesiya, Yesiya n'azaala Yoraamu, Yoraamu n'azaala Zikuri, Zikuri n'azaala Selomoti. Selomoti oyo ne baganda be, be baali abakulu b'amawanika omwaterekebwanga ebintu byonna Kabaka Dawudi, n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, n'abakulira olukumi lukumi n'ekikumi kikumi mu magye, n'abaduumizi, bye baawongeranga Katonda. Ku munyago gwe baanyaganga mu ntalo, kwe baatoolanga okuwongera Mukama okukuuma Essinzizo mu mbeera ennungi. Selomoti ne baganda be, be baakuumanga ebintu byonna buli muntu bye yawonganga, omwali n'ebyo Samweli omulanzi ne Kabaka Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, bye baawonga. Mu basibuka mu Yizuhaari, Kenaniya ne batabani be baakwasibwa omulimu ogutali gwa mu Ssinzizo, wabula ogw'obufuzi mu Yisirayeli, okuba abaami n'abalamuzi. Mu basibuka mu Heburooni, Hasabiya ne be yalinako oluganda abasajja lukumi mu lusanvu abazira, be baaweebwa omulimu ogw'okulabirira Yisirayeli mu kusinza Mukama, ne mu kuweereza kabaka emitala w'Omugga Yorudaani ku ludda olw'ebugwanjuba. Yeriya ye yali omukulembeze w'abasibuka mu Heburooni bonna, nga bwe baali bawandiikiddwa nga bagoberera ennyumba za bajjajjaabwe. Mu mwaka ogw'amakumi ana nga Dawudi ye kabaka, ne wabaawo okunoonyereza ku bo. Ne wazuukawo mu bo, abasajja ab'amaanyi abazira e Yezeri mu kitundu ky'e Gileyaadi. Kabaka Dawudi n'alonda Yeriya n'abamulinako oluganda, abasajja abazira enkumi bbiri mu lusanvu abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, okulabiriranga Abarewubeeni, n'Abagaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'Abamanasse mu bikwata ku Katonda ne ku kuweereza kabaka emitala w'Omugga Yorudaani ku ludda olw'ebuvanjuba. Luno lwe lukalala lw'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, n'abakulira olukumi lukumi n'ekikumi kikumi mu magye, abaaweerezanga kabaka ku mulimu gw'obukulembeze mu Bayisirayeli bonna. Buli mwezi okumalako emyezi gyonna mu mwaka, waabangawo ekibinja kya basajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya, ekyabanga ku luwalo olw'okuweereza okwo, nga kirina abakikulira. Yasobeyaamu mutabani wa Zebudyeli, ye yakulira ab'oluwalo olusooka, olw'omu mwezi ogw'olubereberye, era ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Oyo yali asibuka mu Pereezi era nga ye akulira abakulu bonna ab'eggye eryali mu luwalo olw'omwezi ogw'olubereberye. Dodayi muzzukulu wa Ahohi, ye yakulira ab'oluwalo olw'omwezi ogwokubiri. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Mikilooti ye yali omumyuka we. Benaaya mutabani wa Yehoyaada kabona omukulu, ye yali omukulu w'eggye mu luwalo olw'omwezi ogwokusatu. N'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Oyo ye Benaaya eyali omusajja ow'amaanyi, omu ku “Makumi Asatu” era omukulembeze waabwe. Ne Ammizabaali mutabani we yali wa mu luwalo lwe. Aseheeli muganda wa Yowaabu ye yali omukulembeze owookuna, era ye yakulembera oluwalo olw'omwezi ogwokuna. Zebadiya mutabani we ye yamuddirira. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Omuduumizi owookutaano era eyakulira oluwalo olwokutaano, ye Samuhuti, asibuka mu Yizuhaari. N'ab'omu luwalo olulwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Omuduumizi ow'omukaaga era ow'omu mwezi ogw'omukaaga, yali Yira mutabani wa Yikkesi ow'e Tekowa. N'ab'omu luwalo olulwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Omuduumizi ow'omusanvu era ow'omu mwezi ogw'omusanvu, yali Helezi Omwefurayimu ow'e Peloni. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Omuduumizi ow'omunaana era ow'omu omwezi ogw'omunaana, yali Sibbekaayi ow'e Huusa, asibuka mu Zera mu Kika kya Yuda. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Abiyezeeri ow'e Anatooti, omu ku Babenyamiini, ye yali omuduumizi ow'omwenda era ow'omu mwezi ogw'omwenda. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Maharaayi ow'e Netofa, asibuka mu Zera, ye yali omuduumizi ow'ekkumi era ow'omu mwezi ogw'ekkumi. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Omuduumizi ow'ekkumi n'omu era ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu yali Benaaya ow'e Piratoni era asibuka mu Efurayimu. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Omuduumizi ow'ekkumi n'ababiri era ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, yali Heludaayi ow'e Netofa, asibuka mu Otiniyeeli. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Luno lwe lukalala lw'abaali bakulira ebika bya Yisirayeli: eyali akulira Abarewubeeni, yali Eliyezeeri mutabani wa Zikuri. Sefatiya mutabani wa Maaka, ye yali akulira Abasimyoni. Hasabiya mutabani wa Kemweli, ye yali akulira Abaleevi, Zaddooki nga ye akulira abasibuka mu Arooni. Elihu muganda wa Kabaka Dawudi, ye yali akulira Ekika kya Yuda, Omuri mutabani wa Mikayeli nga ye akulira ekya Yissakaari. Ekika kya Zebbulooni kyali kikulirwa Yisumaaya mutabani wa Obadiya, nga Yerimooti mutabani wa Aziriyeeli ye akulira ekya Nafutaali. Akulira Abeefurayimu yali Hoseya mutabani wa Azaziya, Yoweeli mutabani wa Pedaaya nga ye akulira ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, Yiddo mutabani wa Zekariya n'akulira ekimu ekyokubiri ekirala eky'Ekika kya Manasse mu Gileyaadi. Yaasiyeeli mutabani wa Abuneeri ye yali akulira Ekika kya Benyamiini, Azareeli mutabani wa Yerohaamu nga ye akulira ekya Daani. Abo be baali abakulu b'Ebika bya Yisirayeli. Kabaka Dawudi teyabala abo ab'emyaka amakumi abiri n'abatannagiweza, kubanga Mukama yali asuubizza okufuula Abayisirayeli abangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu. Yowaabu mutabani w'omukazi Zeruyiya, n'atandika okubala abantu, kyokka n'atamaliriza. Okubala kuno okw'abantu, ne kuleetera Mukama okusunguwalira Yisirayeli, era n'omuwendo ogwabalibwa tegwawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya Kabaka Dawudi. Eyalabiriranga amawanika ga kabaka ye Azumaveti mutabani wa Adiyeeli, ate eyalabiriranga amaterekero ag'omu nnimiro, n'ag'omu bibuga, n'ag'omu byalo, n'ag'omu bigo ebigumu eby'okwerindiramu, yali Yonataani mutabani wa Wuzziya. Ezuri mutabani wa Kelubu, ye yakuliranga abo abaakolanga ogw'okulima mu nnimiro. Simeeyi ow'e Raama ye yakuliranga ennimiro z'emizabbibu. Zabudi ow'e Sifumu ye yalabiriranga ebibala ebyanogebwanga okuteekebwa mu masogolero g'omwenge. Baalihanani ow'e Gederi ye yalabiriranga emiti emizayiti, n'emisikamoori egyali mu nsenyi. Yowaasi ye yakuliranga amawanika omuterekebwa omuzigo ogw'emizayiti. Amagana agaalundirwanga mu Saroni, gaalabirirwanga Situraayi ow'e Saroni. Safati mutabani wa Adulaayi, ye yalabiriranga amagana agaali mu biwonvu, Obili Omuyisimayeli ye yalabiriranga eŋŋamiya, nga Yedeya ow'e Meronooti ye alabirira endogoyi. Endiga n'embuzi zaalabirirwanga Yaziizi. Abo bonna be baalabiriranga ebintu bya Kabaka Dawudi. Yonataani kitaawe omuto owa Dawudi, yali muwi wa magezi, nga musajja mutegeevu era munnyonnyozi wa Mateeka. Ye ne Yehiyeedi mutabani wa Hakumooni, be baalabiriranga batabani ba kabaka. Ahitofeeli ye yeebuuzibwangako kabaka. Husaayi Omwaruki ye yali mukwano gwa kabaka. Ahitofeeli bwe yavaawo, Abiyataari ne Yehoyaada mutabani wa Benaaya ne badda mu kifo kye. Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lya kabaka. Kabaka Dawudi n'alagira abakungu bonna mu Yisirayeli okukuŋŋaana. Abakulu b'Ebika, n'abakulira ebitongole ebyaweerezanga kabaka mu mpalo, abaduumizi b'olukumi lukumi, n'ab'ekikumi kikumi mu magye, n'abawanika b'ebyobugagga ebya kabaka, ne batabani be, wamu n'abaami, n'abaserikale bonna ab'amaanyi abazira, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemu. Awo Kabaka Dawudi n'ayimirira butengerera n'abagamba nti: “Muwulire baganda bange era abantu bange. Nayagala nnyo okuzimbira Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama Essinzizo mw'eneebeeranga, kibe ekifo Katonda waffe kw'ateeka ebigere bye, era nali ntegese okuzimba. Kyokka Katonda n'aŋŋamba nti: ‘Tonzimbira Ssinzizo, kubanga ggwe oli musajja mulwanyi wa ntalo, era wayiwa omusaayi gw'abantu.’ Wabula Mukama Katonda wa Yisirayeli yalonda nze mu nnyumba ya kitange yonna, okuba Kabaka wa Yisirayeli emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okufuga. Mu nnyumba z'abasibuka mu Yuda, n'alonda ennyumba ya kitange, ate mu baana ba kitange, n'asiima nze okunfuula kabaka wa Yisirayeli yonna. Mukama ampadde abaana bangi, era mu batabani bange bonna, n'alondamu Solomooni okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Yisirayeli, Ye Mukama yennyini bwe yateekawo. Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Solomooni mutabani wo ye alinzimbira Essinzizo n'empya zange, kubanga namulonda okuba Mutabani wange, nze mbenga kitaawe. Nnaanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyikiranga okugondera amateeka gange n'ebiragiro byange nga bw'akola kaakano.’ “Kale nno abantu bange, mu maaso ga Yisirayeli yenna Mukama gw'akuŋŋaanyizza, mbakuutira era nga ne Katonda waffe awulira: mussengako omwoyo okugondera ebiragiro byonna ebya Mukama, Katonda wammwe, mulyoke musigale nga muli bannannyini nsi eno ennungi, mugirekere abaana bammwe n'abazzukulu abanaabaddiranga mu bigere, ebe yaabwe emirembe gyonna. “Naawe Solomooni mwana wange, manya Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima gwo gwonna era nga weeyagalidde, kubanga Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu era ategeera byonna bye beegomba. Bw'onoomunoonyanga, anaakweraganga. Bw'onoomuvangako, anaakwabuliranga emirembe gyonna. Kale kitegeere nga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'Essinzizo. Ba mumalirivu okikole.” Awo Dawudi n'awa Solomooni mutabani we ekifaananyi ky'Essinzizo nga bwe liribeera: ekisasi kyakwo n'ennyumba zaakwo n'amawanika gaakwo n'ebisenge byakwo eby'omu kalina, n'ebisenge byakwo ebyomunda, n'ekifo eky'entebe ey'obusaasizi. N'amuwa n'ekifaananyi ky'ebyo byonna bye yali alowoozezza eby'empya z'Essinzizo, n'ebisenge byonna ebyetooloddewo, n'amawanika g'ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Katonda, era n'ago omuterekebwa ebintu ebimuwongerwa. Era n'amuwa entereeza yonna ey'empalo za bakabona n'Abaleevi n'ey'omulimu gwonna ogw'okuweereza mu Ssinzizo lya Mukama, n'ey'ebintu byonna ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Mukama, obuzito bwa zaabu ne ffeeza obw'okukozesa ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza ebikozesebwa ku buli mulimu; obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza zaabu era n'obw'ettaala zaakyo, n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza ffeeza n'obw'ettaala zaabyo, okusinziira nga bwe bikozesebwa ku mulimu gwakyo; n'obuzito bwa zaabu ow'okukolamu buli mmeeza ey'okuteekangako emigaati egiweebwayo eri Katonda, n'obwa ffeeza ow'okukolamu emmeeza eza ffeeza. Okwo ssaako ne zaabu omuyooyoote ow'okukolamu ffooka ez'okutooza ennyama, n'ow'okukolamu ebbakuli n'ebikopo, okwo ssaako n'obuzito bwa zaabu n'obwa ffeeza ow'okukolamu ensaniya eza zaabu n'eza ffeeza, n'obuzito bwa zaabu omulongoose ow'okukolamu alutaari enyookerezebwako obubaane, n'ow'okukolamu ekigaali ekiriko abakerubi, abanjuluza ebiwaawaatiro byabwe okubikka Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama. Kabaka Dawudi n'agamba nti: “Ebyo byonna biri mu ntegeka eyawandiikibwa nga yeesigamiziddwa ku biragiro ebyo, Mukama yennyini bye yandagira okutuukiriza.” Dawudi n'agamba Solomooni mutabani we nti: “Guma omwoyo, obe mumalirivu, okole omulimu ogwo. Totyanga, era toterebukanga kubanga Mukama, Katonda gwe mpeereza, ali wamu naawe. Talikwabulira era talikulekerera, wabula anaabeeranga naawe n'akusobozesa okumaliriza omulimu gwonna ogw'okukola ku Ssinzizo lye. Bakabona n'Abaleevi baabo bamaze okuweebwa emirimu gyonna gye banaakolanga mu Ssinzizo, nga bagikola mu mpalo. Abakozi abamanyi okukola buli mulimu weebali abeetegese okukuyamba, era abakulembeze n'abantu bonna banaagonderanga by'obalagira.” Awo Dawudi Kabaka, n'agamba abaali bakuŋŋaanidde awo nti: “Solomooni mutabani wange Katonda gwe yeelondedde, akyali mwana muto, ate ng'omulimu munene, kubanga luno si lubiri lwa bantu, naye Ssinzizo lya Mukama, Katonda. Kyenvudde nfuba nga bwe nsobola okutegeka ebintu byonna eby'okuzimbisa Essinzizo lya Katonda wange: zaabu, ffeeza, ekikomo, ekyuma, emiti, amayinja ag'omuwendo, n'amayinja aganaatona, n'amayinja ag'okwola, n'amayinja amalala ag'omuwendo era amanyirivu ag'engeri zonna mangi ddala. Okwongereza ku ebyo bye ntegekedde Essinzizo lya Katonda wange, mpaddeyo zaabu ne ffeeza nga nzigya ku bugagga obwange ku bwange, olw'okwagala kwe njagalamu Essinzizo lya Katonda wange. Mpaddeyo talanta enkumi ssatu eza zaabu omulungi ennyo ow'e Ofiri, ne talanta kasanvu eza ffeeza omulongoose okubikka ku bisenge by'Essinzizo, n'okukolamu ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza, abafundi bye balikola. Kale kaakano omulala ani eyeevuddemu ku lulwe okubaako by'awongera Mukama?” Awo abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe n'abakulu b'Ebika bya Yisirayeli, n'abaduumizi b'abaserikale olukumi lukumi n'ekikumi kikumi, n'abo abalabirira emirimu gya kabaka ne babaako bye bawaayo nga beeyagalidde. Olw'omulimu gw'Essinzizo, ne bawaayo talanta enkumi ttaano eza zaabu, n'ebisente ebya zaabu ebiyitibwa dariki, omutwalo gumu, ne talanta omutwalo gumu eza ffeeza, ne talanta omutwalo gumu mu kanaana ez'ekikomo, ne talanta emitwalo kkumi ez'ekyuma. N'abo abaalina amayinja ag'omuwendo ennyo, ne bagawaayo mu ggwanika ly'Essinzizo eryali lirabirirwa Yehiyeeli Omuleevi asibuka mu Gerusooni. Abantu ne basanyuka, kubanga abakulembeze baabwe baawaayo ku byabwe eri Mukama mu mutima omulungi, nga beeyagalidde. Kabaka Dawudi naye n'asanyuka nnyo. Dawudi n'atendereza Mukama mu maaso g'abakuŋŋaanidde awo bonna. N'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa jjajjaffe Yisirayeli, otenderezebwe emirembe gyonna. Ayi Mukama, ggwe nnannyini bukulu n'obuyinza n'ekitiibwa n'obuwanguzi era n'okugulumizibwa, kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, bibyo, ayi Mukama. Ggwe Kabaka asukkulumye era akulira ebintu byonna. Ggwe ogaba obugagga n'ekitiibwa. Ggwe w'amaanyi n'obuyinza afuga byonna, era ggwe owa bonna obukulu era n'amaanyi. Kale nno Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo eryekitiibwa. “Naye nze n'abantu bange tetuliiko kye tuyinza kugamba nti ddala ffe tukiwadde, kubanga byonna bye tulina, ggwe obituwa, era ku bibyo by'otuwa, kwe tutodde ne tukutonera. Okimanyi ayi Mukama nti obulamu buno tubuyitamu nga bagenyi era batambuze, era nga bajjajjaffe bonna bwe baali. Ennaku zaffe ez'oku nsi ziyita nga kisiikirize, si za lubeerera. Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira Essinzizo erinaaweesa erinnya lyo ettukuvu ekitiibwa, Ggwe wabituwa era byonna bibyo. Era mmanyi, ayi Katonda wange, ng'ogeza omutima gw'omuntu, era osanyukira omuntu agoberera amazima. Nze nga nnina omutima ogutaliimu bukuusa, mpaddeyo ebintu bino byonna nga neeyagaridde, era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo gy'oli nga beeyagalidde, ne nsanyuka. Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Aburahamu, Yisaaka ne Yisirayeli, kuumanga bulijjo endowooza efaanana bw'etyo mu bantu bo, era kuumanga emitima gyabwe nga gikunywereddeko. Era owe mutabani wange Solomooni omutima ogweweerayo ddala okukwatanga amateeka go ne byonna by'olagira ne by'okuutira, n'okuzimba Essinzizo lye ntegekedde ebintu.” Awo Dawudi n'agamba abakuŋŋaanidde awo bonna nti: “Kaakano mutendereze Mukama Katonda wammwe.” Abantu bonna abaali bakuŋŋaanidde awo ne batendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Ne bakutama emitwe gyabwe, ne bassaamu Mukama ekitiibwa era ne kabaka. Ne bawaayo ebitambiro eri Mukama. Ku lunaku olwaddirira, ne bawaayo ebitambiro ebyokebwa nga biramba: ente ennume lukumi, n'endiga ennume lukumi, n'endiga ento lukumi, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako, n'ebitambiro ebirala bingi nnyo olwa Yisirayeli yonna. Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama, ne basanyuka nnyo ku lunaku olwo. Ne baddamu okulangirira Solomooni mutabani wa Dawudi okuba Kabaka, ne bamufukako omuzigo okubafuganga mu linnya lya Mukama, ne bagufuka ne ku Zaddooki okuba Kabona. Awo Solomooni n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, Mukama gye yateekawo, n'aba Kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'agitebenkerako, Eggwanga lyonna erya Yisirayeli ne limugondera. Abakungu bonna n'abaserikale ab'amaanyi, era ne batabani ba Kabaka Dawudi abalala bonna, ne bagondera Solomooni kabaka. Mukama n'aleetera Yisirayeli yonna okuwa Solomooni ekitiibwa eky'obwakabaka, ekitalabwanga ku kabaka yenna eyasooka mu Yisirayeli. Dawudi mutabani wa Yesse yafuga Yisirayeli yonna emyaka amakumi ana. Yafugira mu Heburooni emyaka musanvu, ne mu Yerusaalemu emyaka amakumi asatu mu esatu. N'afa ng'awagadde nnyo, akaddiye, ng'agaggawadde era nga waakitiibwa. Solomooni mutabani we n'amusikira ku bwakabaka. Ebyo Kabaka Dawudi bye yakola, okuva ku byasooka n'okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu biwandiiko by'abalanzi Samweli ne Natani ne Gaadi. Ebyawandiikibwa ebyo biraga obufuzi bwe bwonna nga bwe bwali, n'amaanyi ge yalina, n'ebintu byonna ebyamutuukako n'ebyatuuka ku Yisirayeli, ne ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetooloddewo. Awo Solomooni mutabani wa Dawudi, n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, era Mukama Katonda we n'amufuula waakitiibwa nnyo. Solomooni n'ayogera n'Abayisirayeli bonna: abaami abatwala abantu olukumi lukumi, n'abatwala ekikumi kikumi; abalamuzi, abakulu b'empya, n'abakulembeze bonna mu Yisirayeli. N'agenda n'abantu abo bonna mu kifo ekigulumivu eky'e Gibiyoni, kubanga eyo ye waali Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, Musa omuweereza wa Mukama gye yakolera mu ddungu. Naye Essanduuko ey'Endagaano yali mu Yerusaalemu, ng'eteekeddwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya mu Kiriyati Yeyariimu. Alutaari ey'ekikomo eyakolebwa Bezaleeli, mutabani wa Wuri, muzzukulu wa Huuri, nayo yali mu Gibiyoni, mu maaso ga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Solomooni n'asinza Mukama ng'awaayo ebitambiro bya nsolo lukumi, ezattibwa ne zookebwa ku alutaari eyo ey'ekikomo. Ekiro ekyo, Katonda n'alabikira Solomooni mu kirooto, n'amugamba nti: “Nsaba ky'oyagala, nkikuwe.” Solomooni n'agamba Katonda nti: “Wayagala nnyo kitange Dawudi, era kaakano onzikirizza okumusikira ku bwakabaka. Kale ayi Mukama Katonda, tuukiriza kye wasuubiza kitange. Onfudde Kabaka w'abantu abali ng'enfuufu ey'oku nsi obungi. N'olwekyo, nkusaba ompe amagezi n'okumanya, nsobole okukulembera abantu bano. Kale ani ayinza okulamula eggwanga lino ekkulu bwe lityo?” Katonda n'agamba Solomooni nti: “Ekyo ky'olowoozezza kirungi, obuteesabira bugagga oba ebintu, kitiibwa wadde okuzikiriza abalabe bo, era obuteesabira kuwangaala, naye n'osaba amagezi n'okumanya, osobolenga okulamula abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe. Kale amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, ebitafunibwanga kabaka mulala mu baakusooka, era ebitalifunibwa mulala mu balikuddirira.” Awo Solomooni n'ava e Gibiyoni awali Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'akomawo mu Yerusaalemu, n'afugira eyo Yisirayeli. N'akuŋŋaanya amagaali lukumi mu bina n'abaserikale abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, n'abateeka mu bibuga ebirimu amagaali, ne mu Yerusaalemu, ye yennyini mwe yali. Mu biseera bye, ffeeza ne zaabu byayala mu Yerusaalemu, ne biba bingi ng'amayinja. N'emivule ne giba mingi ng'emisikamoreya mu biwonvu bya Buyudaaya. Embalaasi Solomooni ze yalina, baaziggyanga mu Misiri ne Kilikiya. Abasuubuzi, baazigulanga Kilikiya, ng'ebbeeyi yaazo bwe yali. Amagaali baagaggyanga mu Misiri, nga buli kigaali kigula ebitundu lukaaga ebya ffeeza, ate embalaasi ng'egula ebitundu kikumi mu ataano ebya ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga, ne baziguza bakabaka b'Abahiiti n'ab'Abassiriya. Awo Solomooni n'ateekateeka okuzimba Essinzizo ery'okusinzizangamu Mukama, era n'okwezimbira olubiri. N'alonda abasajja emitwalo musanvu ab'okwetikkanga eby'okuzimbisa, n'abasajja emitwalo munaana ab'okwasanga amayinja mu nsozi, n'abasajja enkumi ssatu mu lukaaga ab'okulabiriranga omulimu. Solomooni n'aweereza Hiraamu, kabaka w'e Tiiro obubaka buno nti: “Kolagana nange nga bwe wakolagananga ne kitange Dawudi, n'omuweerezanga emivule gye yazimbisa olubiri lwe. Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange Essinzizo ery'okumuweesa ekitiibwa. Essinzizo lino lijja kumuwongerwa, libe ery'okwoterezangamu obubaane obw'akawoowo w'ali, n'okumuweerangamu ebitambiro ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Sabbaato, ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi, ne ku nnaku endala ze tuweerako Mukama Katonda waffe ekitiibwa, nga bwe yalagira Abayisirayeli okukolanga emirembe gyonna. Era Essinzizo lye nteekateeka okuzimba ddene, kubanga Katonda waffe mukulu, tewali amwenkana. Naye ani ayinza okumuzimbira essinzizo, nga n'eggulu lyennyini eryenkanidde awo obunene taligyamu? Nze ani okuzimba ekifo aw'okwotereza obubaane mu maaso ge? Kale kaakano mpeereza omuntu amanyi okuweesa ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ekikomo n'eby'ekyuma, n'okukola eby'engoye eza bbululu n'eza kakobe n'emmyufu, era omukugu mu kusala amayinja, akolere wamu n'abakozi bange abakugu wano mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, kitange be yateekateeka. Mpeereza emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva mu Lebanooni, kubanga mmanyi nti basajja bo bamanyirivu mu kutema emiti eyo mu Lebanooni. Basajja bange banaakolera wamu n'ababo, okunteekerateekera emiti mingi, kubanga Essinzizo lye ŋŋenda okuzimba lijja kuba ddene ddala. Basajja bo abatema emiti, nja kubafunira kilo z'eŋŋaano emitwalo ebiri, kilo za bbaale emitwalo ebiri, lita z'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri, ne lita z'omuzigo emitwalo ebiri.” Awo Hiraamu kabaka w'e Tiiro n'awandiikira Solomooni ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti: “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula Kabaka waabwe. Mukama Katonda wa Yisirayeli agulumizibwe. Omutonzi w'eggulu n'ensi, awadde Kabaka Dawudi omwana omutegeevu era alina amagezi n'okumanya, era kaakano ateeseteese okuzimbira Mukama Essinzizo, n'okwezimbira olubiri. Kale nkuweerezza omuntu omugezi ayitibwa Huramu. Nnyina wa mu Kika kya Daani, kitaawe mutuuze w'e Tiiro. Mukugu mu kukola ebya zaabu n'ebya ffeeza, eby'ekikomo n'eby'ekyuma, eby'amayinja n'eby'emiti. Asobola okukola engoye eza bbululu, n'eza kakobe n'emmyufu, n'eza kitaani ennungi. Era mukugu mu kuyola okwa buli ngeri, ng'asobola n'okukola omusono gwonna oguba gumuweereddwa. Mmukuweerezza akole nga bali wamu n'abantu bo abakugu, era n'abo abaakoleranga mukama wange, kitaawo Dawudi. Kale kaakano tuweereze eŋŋaano ne bbaale, n'omuzigo, n'omwenge ogw'emizabbibu, bye wasuubiza. Abasajja bange bajja kutema emiti gy'oyagala okuva mu nsozi za Lebanooni. Nja kugisengeka ngisibe ng'ekibaya, ngisse ku nnyanja, gisobole okuseeyeeya okutuuka e Yoppa. Eyo nno gy'oligiggya okugitwala e Yerusaalemu.” Awo Solomooni n'assaawo okubala abagwira bonna abaali mu Yisirayeli, nga Dawudi kitaawe bwe yali akoze. Abagwira bonna baali emitwalo kkumi n'etaano, mu enkumi ssatu mu lukaaga. Ku bo, abantu emitwalo musanvu n'abateeka ku mulimu gw'okwetikka eby'okuzimbisa, ate emitwalo munaana n'abateeka ku gwa kwasa mayinja mu nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga n'abawa gwa kubalabirira nga bakola. Ssekabaka Dawudi kitaawe wa Solomooni, yali ateeseteese ekifo eky'okuzimbamu Essinzizo. Kyali mu Yerusaalemu ku lusozi Moriya, Mukama we yamulabikira. Kye kifo Arunaani Omuyebusi kye yali akozesa ng'egguuliro. Solomooni n'atandika okuzimba mu mwezi ogwokubiri ogw'omwaka ogwokuna okuva lwe yalya obwakabaka. Essinzizo Solomooni lye yazimba, ebipimo byalyo, lyali lya mita amakumi abiri mu musanvu obuwanvu, ne mita mwenda obugazi. Ekisasi eky'omu maaso kyali kyenkana obugazi bwonna obw'Essinzizo, ze mita mwenda, ate mita ataano mu nnya obugulumivu. Ekisenge munda yakibikkako zaabu omulongoose. Ekisenge ekinene n'akibikkako embaawo ez'emiberosi, nga kungulu zibikkiddwako zaabu omulongoose, n'akolako ebifaananyi eby'enkindu n'eby'emikuufu. N'awunda Essinzizo n'amayinja ag'omuwendo ennyo ne zaabu eyaggyibwa mu nsi y'e Paruvayimu. Yakozesa zaabu okubikka ebisenge by'Essinzizo, n'emirabba gyalyo, n'emiryango, era n'enzigi. Ku bisenge n'akolako bakerubi N'azimba ekisenge ekyomunda ekiyitibwa Ekifo Ekitukuvu Ennyo, obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bw'Essinzizo: mita mwenda mwenda. Zaabu aweza talanta lukaaga ye yakozesebwa okubikka ebisenge by'Ekifo Ekitukuvu Ennyo. Emisumaali egya zaabu gyalimu obuzito bwa gulaamu bitaano mu nsanvu. Era n'ebisenge ebya kalina byabikkibwako zaabu. Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'akolamu ebifaananyi bya bakerubi bibiri eby'ekyuma ne bibikkibwako zaabu. Ebiwaawaatiro bya bakerubi abo bombi, byonna awamu nga byanjuluziddwa, byali biweza obuwanvu bwa mita mwenda. Ekiwaawaatiro eky'omu, kyali kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kituuka ku kisenge ky'Essinzizo, n'ekiwaawaatiro kye ekirala, nakyo kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kikwata ku kiwaawaatiro kya kerubi munne. Ekiwaawaatiro kya kerubi omulala, nakyo kyali kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kituuka ku kisenge ky'Essinzizo. Ate ekiwaawaatiro kye ekirala, nakyo kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kikwata ku kiwaawaatiro kya kerubi munne. Ebiwaawaatiro bya bakerubi bombi nga byanjuluziddwa, byali biweza mita mwenda. Bakerubi abo baali bayimiridde nga batunuulidde mu kisenge ky'Essinzizo ekya wakati. N'akola olutimbe olw'Ekifo Ekitukuvu, mu lugoye olwa bbululu, ne kakobe, n'olumyufu n'olweru, ng'alukozeeko bakerubi. Mu maaso g'Essinzizo, kabaka n'akolawo empagi bbiri, nga za mita kkumi na ttaano n'ekitundu obugulumivu, era nga buli emu eriko omutwe gwa mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu. Ku ntikko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi eby'emikuufu, n'ebifaananyi eby'amakomamawanga kikumi ag'ekikomo g'atadde ku mikuufu. Empagi ezo n'azisimba mu maaso g'Essinzizo, emu ku ludda olwa ddyo, n'endala ku lwa kkono. Ey'oku ludda olwa ddyo n'agituuma Yakini, ey'oku kkono n'agituuma Bowaazi Kabaka Solomooni n'akola alutaari ey'ekikomo, nga ya mita mwenda obugazi, mita mwenda obuwanvu, ne mita nnya n'ekitundu obugulumivu. Era n'aweesa ogutanka gw'amazzi ogunene ogwekulungirivu ogw'ekikomo, nga gwa mita nnya n'ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, mita bbiri n'obutundu bubiri obugulumivu, era nga gupimwako mita kkumi na ssatu n'ekitundu okugwetooloola. Okwetooloola ebweru w'omugo gwagwo, waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi by'ente, ebigwetooloolera ddala emikono amakumi asatu, nga byaweesebwa wamu nagwo. Ogutanka ogwo ogunene, gwatuuzibwa ku bifaananyi by'ente kkumi na bibiri eby'ekikomo, ebitunuulidde ebweru: ebisatu nga bitunuulidde mu bukiikakkono, ebisatu ebugwanjuba, ebisatu mu bukiikaddyo, n'ebisatu ebuvanjuba, emikira gyabyo nga gye giri munda. Omubiri gw'ogutanka ogunene gwali gwa luta lumu. Omugo gwagwo gwali gukoleddwa ng'ogw'ekibya, era nga gweyanjuluzza ng'ekimuli ky'amalanga. Ogutanka gwonna gwali gugyamu lita emitwalo nga mukaaga mu kakaaga. Era n'akola ebbenseni kkumi, ettaano n'aziteeka ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, n'ettaano ku lwa kkono. Zaali za kwolezaamu bintu ebikozesebwa ku bitambiro ebyokebwa. Amazzi mu gutanka ogunene ge gaali aga bakabona ag'okunaaba. N'akola ebikondo by'ettaala kkumi ebya zaabu, nga bwe byali biteekwa okukolebwa, n'abiteeka mu Ssinzizo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku lwa kkono. Era n'akola emmeeza kkumi, n'aziteeka mu Ssinzizo, ttaano ku ludda olwa ddyo, n'ettaano ku lwa kkono. N'akola n'ebibya kkumi ebya zaabu. Era n'akola oluggya olwa bakabona, n'oluggya olunene, enzigi zaazo n'azibikkako ekikomo. Ogutanka ogunene n'aguteeka ku ludda olwa ddyo, olw'ebuvanjuba bw'Essinzizo. Huramu n'akola entamu n'ebijiiko n'ebibya. N'amaliriza ebintu byonna bye yakolera Kabaka Solomooni mu Ssinzizo: empagi ebbiri, emitwe ebiri egikoleddwa ng'ebibya ku ntikko z'empagi, ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko ya buli mpagi; amakomamawanga ebikumi ebina ag'ekikomo agateekeddwa mu mbu ebbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi. N'akola ebituuti kkumi, n'ebbenseni ku bituuti ebyo, ogutanka ogunene, n'ente ekkumi n'ebbiri kwe gutuuziddwa; entamu, n'ebijiiko, n'ewuuma ezikwata ennyama. Huramu omukozi w'eby'emikono omwatiikirivu, n'akolera Solomooni ebintu ebyo byonna eby'ekikomo ekizigule, eby'okukozesanga mu Ssinzizo. Ebintu ebyo Kabaka yabikolera mu lusenyi lwa Yorudaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati wa Sukkoti ne Zerida. Ebintu ebyo byonna Solomooni bye yakola, byali bingi nnyo, obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa ne batabupima. Solomooni n'akola n'ebintu byonna eby'okukozesebwanga mu Ssinzizo: alutaari eya zaabu n'emmeeza okuteekebwa emigaati egiweebwayo eri Katonda; ebikondo by'ettaala n'ettaala zaabyo ez'okwakiranga mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu ng'enkola bwe yali, byali bya zaabu omulongoose, n'ebitimbibwa, ebikoleddwa ng'ebimuli, ettaala, ne makansi nga bya zaabu omulungi ennyo, eby'okukoleeza ettaala, n'okuzizikiza, n'ebibya, n'essowaani z'obubaane, n'ensaniya okuteekebwa evvu, byonna byakolebwa mu zaabu omulongoose. N'enzigi z'Essinzizo ez'ebweru, n'ezoomunda ez'Ekifo Ekitukuvu ennyo, nazo zaali za zaabu. Awo Solomooni n'amaliriza omulimu gwonna ogw'okuzimba Essinzizo, n'alyoka aleeta ebintu byonna, Dawudi kitaawe bye yawongera Mukama: ffeeza ne zaabu, n'ebikozesebwa byonna, n'abiteeka mu ggwanika ly'Essinzizo. Ebyo bwe byaggwa, Solomooni n'ayita abakulembeze b'omu Yisirayeli: abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba okujja e Yerusaalemu, bagende baggye Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Siyooni. Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka, ku Mbaga ey'Ensiisira mu mwezi ogw'omusanvu. Abakulu b'omu Yisirayeli bonna bwe bajja, Abaleevi ne basitula Essanduuko ey'Endagaano, ne bagitwala mu Ssinzizo. Bakabona n'Abaleevi, Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama nayo ne bagitwala mu Ssinzizo awamu n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu. Kabaka Solomooni n'Abayisirayeli bonna abaali bakuŋŋaanidde w'ali ne babeera mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, ne batambira ente n'endiga nnyingi nnyo, ezitayinza na kubalika. Awo bakabona ne baleeta mu Ssinzizo Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, ne bagiteeka mu kifo kyayo, munda mu Ssinzizo, mu Kifo Ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi. Ebiwaawaatiro bya bakerubi ebyagaagavu ne bibikka Essanduuko n'emiti kw'esitulirwa. Emiti egyo gyali miwanvu, ng'omuntu ayimiridde mu Ssinzizo, mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo asobola okulaba entwe zaagyo, naye ng'ali ebweru, taziraba. Emiti egyo gikyaliyo n'okutuusa kati. Mu Ssanduuko ey'Endagaano temwali kintu kirala, wabula ebipande by'amayinja ebibiri, Musa bye yateekeramu ku lusozi Sinaayi, Mukama bwe yakola endagaano n'Abayisirayeli, nga bavudde mu Misiri. Bakabona bonna baali beetukuzizza. Awo olwatuuka, bonna ne bavaayo, awatali kufa ku mpalo zaabwe. Abaleevi abayimbi bonna, Asafu, Hemani, Yedutuuni ne batabani baabwe, ne baganda baabwe, ne bayimirira ku ludda lwa alutaari olw'ebuvanjuba, nga bambadde ebyambalo ebyeru ebirungi, nga bakutte ebitaasa n'entongooli n'ennanga, era nga bali wamu ne bakabona kikumi mu abiri, abafuuyi b'amakondeere. Awo abayimbi n'ab'ebivuga ne bakwanya wamu amaloboozi, nga batendereza era nga beebaza Mukama. Ne basaakaanyiza wamu amaloboozi gaabwe n'ag'amakondeere n'ebitaasa n'ebivuga ebirala nga bagamba nti: “Mutendereze Mukama, kubanga mulungi. Ekisa kye kya mirembe gyonna!” Awo Essinzizo ne lijjula ekire, bakabona ne batasobola kusigalamu okuweereza, kubanga ekitiibwa kya Mukama Katonda kyajjuza Essinzizo lye. Awo Solomooni n'agamba nti: “Ayi Mukama wasiima okunneeraga mu kire ekikutte ekizikiza. Naye nze nkuzimbidde Essinzizo eryekitiibwa, libe ekifo mw'onoobeeranga ennaku zonna.” Awo Kabaka n'akyuka, n'atunuulira ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ekyali kiyimiridde awo, n'abasabira omukisa. N'agamba nti: “Mwebaze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, atuukirizza kye yasuubiza kitange Dawudi, bwe yamugamba nti: ‘Kasookedde nzigya bantu bange mu Misiri, sirondanga kibuga na kimu mu Yisirayeli, mwe bananzimbira Ssinzizo, era sirondanga muntu n'omu wa kukulemberanga bantu bange Abayisirayeli. Naye kaakano neerondedde Yerusaalemu okuba ekifo mwe banansinzizanga. Era nnonze ggwe Dawudi, okulembere abantu bange Abayisirayeli’ ” Solomooni n'ayongera okugamba nti: “Kitange Dawudi yalowooza okuzimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo. Naye Mukama n'amugamba nti: ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira Essinzizo. Naye si ggwe ojja okulinzimbira, wabula mutabani wo ggwe wennyini gw'ozaala, ye alinzimbira Essinzizo.’ “Kaakano Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nsikidde kitange Dawudi, ne ntuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, nga Mukama bwe yasuubiza. Era nzimbidde Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo. Era nditaddemu Essanduuko erimu Endagaano, Mukama gye yakola n'abantu ba Yisirayeli.” Awo Solomooni n'ayimirira mu maaso ga alutaari ya Mukama, ng'Abayisirayeli bonna bali awo, n'agolola emikono gye. Yali akoze ekituuti eky'ekikomo, kya mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu era n'obugazi, ne mita emu n'obutundu busatu obugulumivu, ng'akitadde wakati mu luggya. N'alinnya waggulu ku kituuti ekyo, n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, n'agolola emikono gye eri eggulu. N'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu ne mu nsi tewali Katonda mulala ali nga ggwe. Kubanga ggwe okuuma endagaano gy'okola n'abantu bo, era obakwatirwa ekisa, bwe bakunywererako n'omutima gwabwe gwonna. Wakuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi. Ggwe wakimusuubiza wennyini, era olwaleero okituukirizza. Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, kuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange, bwe wamugamba nti ab'ezzadde lye bwe balibeera abawulize, era ne bakunywererako nga ye bwe yakola, taabulwenga mu bo batuula ku ntebe ya bwakabaka bwa Yisirayeli. Kale kaakano, ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, tuukiriza ekigambo kyo, kye wagamba omuweereza wo Dawudi. “Naye ddala, ayi Katonda, oyinza okubeera n'abantu bo ku nsi? N'eggulu lyennyini olifundamu n'otogyamu. Kale onoogya otya mu Ssinzizo lino lye nzimbye? Wabula ndi muweereza wo, ayi Mukama Katonda wange. Wulira okwegayirira kwange, era ompe bye nkusaba. Kuumanga Essinzizo lino emisana n'ekiro. Wasuubiza nti kino kye kifo mwe banaakusinzizanga. Kale owulirenga bye nnaakusabanga nze omuweereza wo, nga ntunuulidde Essinzizo lino. Era owulirenga bye nkusaba nze omuweereza wo, era n'abantu bo Abayisirayeli bye banaakusabanga, nga batunuulidde ekifo kino. Ddala otuwulire era otusaasire ng'osinziira mu ggulu eyo gy'obeera. “Omuntu bwe banaamulumirizanga nti yazza omusango ku munne, ne baagala okumulayiza okukakasa oba nga talina musango, n'ajja n'alayirira wano mu maaso ga alutaari yo mu Ssinzizo lino, mu ggulu eyo gy'oli owuliranga, n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango. “Abantu bo Abayisirayeli bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okukunyiiza, naye ne badda gy'oli ne bakwenenyeza, ne basaba nga beegayirira mu maaso go mu Ssinzizo lino, eyo gy'oli mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abantu bo Abayisirayeli, n'obakomyawo mu nsi gye wabawa, bo ne bajjajjaabwe. “Eggulu bwe lineesibanga, enkuba n'etetonnya, kubanga abantu bakoze ebibi ne bakunyiiza, naye oluvannyuma ne bakwegayirira nga batunuulidde ekifo kino, ne bakwenenyeza, ne balekayo ebibi byabwe ng'omaze okubabonereza, eyo gy'oli mu ggulu owuliranga n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo, era abantu bo Abayisirayeli, n'obayigiriza okukolanga ebituufu; olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo eno, gye wawa abantu bo okuba eyaabwe emirembe gyonna. “Mu nsi bwe munaagwangamu enjala, oba bwe munaabangamu endwadde ya kawumpuli, oba ebirime bwe binaagengewalanga, oba ne bijjako obukuku oba ebisaanyi; oba abalabe bwe banaalumbanga abantu bo mu bibuga byabwe, oba bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okwa buli ngeri, abantu bo Abayisirayeli ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira, eyo mu ggulu gy'obeera obawuliranga era obasonyiwanga. Buli omu omukoleranga ku bibye nga bw'asaanira, kubanga ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abantu, balyoke bakutyenga, era bakuwulirenga, ebbanga lyonna lye balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe. “Omugwira atabeera mu bantu bo Abayisirayeli, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala, ng'awulidde obukulu bwo, n'obuyinza bwo, n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'asinza ng'atunuulidde Essinzizo lino, eyo mu ggulu gy'obeera owuliranga by'akusaba okumukolera, olwo abantu bonna mu nsi balyoke bakumanye era bakuwulire, ng'abantu bo Abayisirayeli bwe bakuwulira, era bamanye nti Essinzizo lino lye nzimbye lya kukusinzizangamu. “Abantu bo bwe banaagendanga gy'onoobanga obatumye okulwanyisa abalabe baabwe, ne bakusinza nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, era nga batunuulidde Essinzizo lye nkuzimbidde, owuliranga bye bakusaba. Owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira, ng'osinziira mu ggulu. “Abantu bo bwe banaakolanga ekibi ne bakunyiiza, nga bwe watali atakola kibi, n'obasunguwalira era n'oleka abalabe baabwe okubawangula ne babatwala mu nsi eri okumpi oba ewala, naye bwe baneerowoozanga nga bali eyo mu nsi gye batwaliddwa nga basibe, ne beenenya, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Twayonoona, twawaba, era twakola ebitasaana;’ bwe baneenenyezanga ddala mu mazima nga bali eyo mu nsi, gye baatwalibwa nga basibe, ne bakusinza nga batunuulidde ensi yaabwe, gye wawa bajjajjaabwe, era nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza, era n'Essinzizo lino lye nkuzimbidde, kale owuliranga bye bakusaba. Eyo mu ggulu gy'obeera, owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira, era n'osonyiwa abantu bo abakoze ebibi ne bakunyiiza. “Kaakano ayi Katonda wange, weekalirize amaaso, era otege amatu, owulire byonna ebisabirwa mu kifo kino. Situka ayi Mukama Katonda, ojje mu kifo mw'owummulira, obeeremu n'Essanduuko ey'Endagaano, etegeeza obuyinza bwo. Lokola bakabona bo, ayi Mukama Katonda, n'abatukuvu basanyuke olw'ebirungi by'obakolera. Ayi Mukama Katonda, togoba oyo owuwo gwe wasiiga omuzigo. Jjukira okwagala kwe wayagalamu Dawudi, omuweereza wo.” Awo Solomooni bwe yamaliriza okusinza, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ebiweebwayo ebyokebwa, era n'ebitambiro. N'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza Essinzizo. Bakabona ne batayinza kuyingira mu Ssinzizo, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kijjuddemu. Abayisirayeli bonna bwe baalaba omuliro, n'ekitiibwa kya Mukama nga bikka ku Ssinzizo, ne bavuunama ku mayinja amaaliire nga basinza Katonda, era nga bamwebaza kubanga mulungi, n'ekisa kye kya mirembe gyonna. 106:1; 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11 Awo Kabaka n'abantu bonna ne bawaayo ebitambiro eri Mukama. Kabaka Solomooni n'awaayo ebitambiro bya nte emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri. Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaayo Essinzizo eri Mukama. Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe. N'Abaleevi ne bayimirira nga babatunuulidde, nga balina ebivuga Dawudi bye yakola okutendereza Mukama, ne babikozesa mu luyimba Dawudi lwe yabayigiriza, olw'okwebaza Mukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna. Bakabona ne bafuuwa amakondeere nga n'Abayisirayeli bonna bayimiridde. Solomooni n'atukuza oluggya olwawakati olwali mu maaso g'Essinzizo, n'aweerayo mu luggya olwo ebitambiro ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'amasavu agaava ku biweebwayo olw'okutabagana. Yakola bw'atyo, kubanga alutaari ey'ekikomo gye yakola, yali nfunda nnyo, ng'ebiweebwayo ebyo byonna tebiyinza kugyako. Mu kiseera ekyo, Solomooni ng'ali wamu n'Abayisirayeli bonna, n'akola embaga, gye baamalako ennaku musanvu. Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awali omwagaanya oguyingirirwamu ogw'e Hamati, n'eri ku Kagga ak'ensalo ne Misiri. Baamala ennaku musanvu ez'okuwaayo alutaari eri Mukama, n'ennaku endala musanvu ez'embaga. Ku lunaku olw'omunaana ne baba n'olukuŋŋaana olukulu olwa bonna. Ku lunaku olwaddako, olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogw'omusanvu, Solomooni n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Baddayo ewaabwe nga basanyufu era nga bamativu mu mitima olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi ne Solomooni, n'abantu be Abayisirayeli. Awo Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo n'olubiri, era n'amaliriza bulungi okuteekamu byonna bye yalowooza okuteeka mu Ssinzizo, n'okuteeka mu lubiri lwe, Mukama n'amulabikira ekiro. N'amugamba nti: “Mpulidde by'onsabye, era nzikirizza Essinzizo lino libe ekifo omunampeerwanga ebitambiro. Bwe nnaasibanga eggulu enkuba n'etetonnya, oba bwe nnaasindikanga enzige okulya ebirime, oba bwe nnaasindikanga kawumpuli mu bantu bange, abantu bange abo abansinza bwe baneetoowazanga ne beegayirira, ne bakyukira gye ndi, ne bava mu mpisa zaabwe embi, mu ggulu gye mbeera nnaawuliranga, ne mbasonyiwa ebibi byabwe, ne mponya ensi yaabwe. Nneekalirizanga amaaso era nnaateganga amatu ne mpulira byonna bye bansaba nga bali mu kifo kino. Kubanga kaakano Essinzizo lino nditukuzizza, bansinzizengamu ennaku zonna. Era nnaalikuumanga ne ndirabirira ebbanga lyonna. Naawe bw'onompeerezanga n'obwesigwa nga kitaawo Dawudi bwe yakola, n'ogondera amateeka gange, era n'otuukiriza byonna bye nnaakulagiranga, ndinyweza obwakabaka bwo nga bwe nalagaanya kitaawo Dawudi, nga mmugamba nti mu zzadde lye taabulwengamu afuga Yisirayeli. Naye bwe mulinvaako, ne mujeemera amateeka gange n'ebiragiro bye mbawadde, ne muweereza balubaale, era ne mubasinza, olwo ndibaggya mu nsi yange gye nabawa mmwe, era ndyabulira Essinzizo lino lye ntukuzizza bansinzizengamu. Ndirifuula eky'okufumwako enfumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna. “Essinzizo lino kaakano lyakitiibwa nnyo, naye buli anaayitangawo, aneewuunyanga nti: ‘Lwaki Mukama yakola bw'atyo ensi eno n'Essinzizo lino?’ Abantu banaddangamu nti: ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu nsi ye Misiri, ne beewa balubaale ne babasinza, era ne babaweereza, Mukama kyeyava abatuusaako akabi akenkanidde awo.’ ” Awo olwatuuka, emyaka amakumi abiri Solomooni gye yamala ng'azimba Essinzizo n'olubiri lwe bwe gyaggwaako, Solomooni n'azimba buggya ebibuga, Hiraamu bye yamuwa, n'asenzaamu Abayisirayeli. Awo Solomooni n'agenda n'awamba ekitundu ky'e Hamati ne Zoba. N'azimba ekibuga Tadumori mu ddungu. N'azimba n'ebibuga byonna mu Hamati, n'abifuula eby'okuterekangamu ebintu bye. Era n'azimba ebibuga Beti Horoni Ekyawaggulu ne Beti Horoni Ekyawansi, ne byetooloozebwa ebigo ebigumu, ebiriko emiryango n'ebigisiba. N'azimba n'ebibuga Baalati, n'ebibuga byonna bye yaterekangamu ebintu, n'ebibuga bye yakuumirangamu amagaali, n'ebibuga ebyabeerangamu basajja be abeebagala embalaasi. N'azimba n'ebintu n'ebirala byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemu, ne mu Lebanooni, n'awalala wonna mu matwale ge. Abantu bonna abatali Bayisirayeli: Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi, abaasigalawo, Abayisirayeli be bataazikiriza nga bawamba ensi ya Kanaani, Solomooni n'akozesa bazzukulu baabwe emirimu egy'obuwaze. Era be bakyagikola ne leero. Naye Abayisirayeli bo, Solomooni teyabafuula baddu ba kukola mirimu gye, wabula ne baba balwanyi mu ntalo, n'abakulu mu magye, n'abakulira abavuzi b'amagaali ge, n'abeebagazi b'embalaasi ze. Solomooni yalina abakungu ebikumi bibiri mu ataano abaafuganga abantu. Awo Solomooni n'aggya mukazi we muwala wa Kabaka w'e Misiri mu kibuga kya Dawudi, n'amuteeka mu nnyumba gye yamuzimbira, kubanga yagamba nti: “Mukazi wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi Kabaka wa Yisirayeli, kubanga ebifo ebyatuukibwamu Essanduuko ya Mukama bitukuvu.” Awo Solomooni n'awangayo eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa ku alutaari gye yazimba mu maaso g'Essinzizo. Yabiwangayo nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku, ng'Amateeka ga Musa bwe galagira okubiwaayo ku Sabbaato ne mu kuboneka kwa buli mwezi, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka: ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, n'ey'Amakungula, n'ey'Ensiisira Solomooni yakola nga Dawudi kitaawe bwe yalagira, n'ateekawo empalo, bakabona ze bagoberera nga bakola omulimu gwabwe. N'ateekawo n'ez'Abaleevi ze bakolerako omulimu gwabwe ogw'okuyimba ennyimba, n'okuweereza nga bayamba ku bakabona, nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku. N'ateekawo n'abakuuma emiryango mu mpalo ku buli mulyango. Kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yali alagidde. Ssekabaka Dawudi bye yalagira bakabona n'Abaleevi ku bintu ebyaterekebwa, ne ku bintu ebirala, ne babituukiriza bulungi. Bw'atyo Solomooni n'amaliriza omulimu gwonna, okuviira ddala ku lunaku lwe baasima omusingi gw'Essinzizo, okutuusa lwe lyaggwa okuzimba. Bwe lityo Essinzizo ne limalirizibwa. Awo Solomooni n'agenda mu Eziyonigeba ne Eloti ku lubalama lw'ennyanja, mu nsi ya Edomu. Hiraamu n'amuweereza amaato n'abalunnyanja. Ne bagenda wamu n'abaweereza ba Solomooni mu nsi y'e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta ebikumi bina mu ataano, ne bamuleeta eri Kabaka Solomooni. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumu lya Solomooni n'ajja e Yerusaalemu amugeze, ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu. Yajja n'ekibiina ky'abaweereza be kinene nnyo, n'eŋŋamiya ezeetisse ebyakaloosa ne zaabu mungi nnyo n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Awo bwe yatuuka ewa Solomooni, n'amubuuza ebyo byonna bye yalina ku mutima gwe. Solomooni n'amuddamu byonna bye yamubuuza. Tewali kintu na kimu kyakaluubirira Solomooni okunnyonnyola. Kabaka omukazi ow'e Seba bwe yamala okulaba amagezi ga Solomooni, n'olubiri Solomooni lwe yazimba, n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, n'ennyambala yaabwe, n'abasenero be n'ebyambalo byabwe, n'ebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu Ssinzizo, ne yeewuunya nnyo, n'awuniikirira. N'agamba kabaka nti: “Bye nawulira mu nsi yange ku bikolwa byo ne ku magezi go, byali bituufu. Naye saabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'agange. Era ddala bye nawulira, tebyenkana wadde ekimu ekyokubiri eky'amagezi g'olina. Ettutumu ly'olina, lisinga lye nawulira. Abasajja bo nga balina omukisa! Abaweereza bo bano nga beesiimye, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira eby'amagezi by'oyogera. Mukama Katonda wo atenderezebwe, eyalaga nga bw'akusiimye, ng'akufuula Kabaka, ofuge mu linnya lye. Kubanga Katonda wo ayagala abantu be Abayisirayeli, era ayagala okubakuuma babeerewo ennaku zonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe, oleetewo amazima n'obwenkanya.” Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri. N'amutonera n'ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Era waali tewabangawo byakaloosa ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Seba bye yatonera Kabaka Solomooni. N'abaweereza ba Hiraamu n'aba Solomooni abaaleeta zaabu okuva mu Ofiri, baleeta embaawo ez'emitoogo, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Embaawo ezo kabaka n'azikozesa okuzimba amadaala g'omu Ssinzizo, n'ag'omu nnyumba ye. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Mu Buyudaaya baali tebalabanga mbaawo ziri ng'ezo. Awo kabaka Solomooni n'awa kabaka omukazi ow'e Seba byonna bye yayagala, na buli kye yasaba, nga tobaliddeeko bye yamuwa olw'ebyo kabaka omukazi bye yamuleetera. Awo kabaka omukazi n'abaweereza be ne baddayo mu nsi y'ewaabwe. Zaabu Solomooni gwe yafunanga omwaka, yawezanga talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga, awatali kubalirako oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi n'empooza ku bitundibwa. Ne bakabaka bonna ab'e Buwarabu n'abafuzi b'ebitundu mu nsi eyo, nabo baaleeteranga Solomooni zaabu ne ffeeza. Solomooni n'aweesesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, nga buli emu ezitowa kilo nga musanvu. N'aweesesa n'engabo entono ebikumi bisatu eza zaabu, nga buli emu ezitowa kilo nga ssatu. Zonna n'aziteeka mu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni. Kabaka era ne yeekolera entebe ey'obwakabaka ennene ey'amasanga, n'agibikkako zaabu omulungi ennyo. Waaliwo amadaala mukaaga okugituukako, n'ekirinnyibwako ebigere ekya zaabu, ekyali kisibiddwa ku yo. Era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi. Era ku buli ludda lw'awateekebwa omukono, waaliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde. Waaliwo n'ebifaananyi ebirala eby'empologoma kkumi na bibiri eziyimiridde, emu emu ku nkomerero ya buli ddaala, erudda n'erudda w'amadaala ago omukaaga. Ebintu byonna ebya Solomooni eby'okunyweramu byali bya zaabu. Era ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoose. Mu biseera bya Solomooni, ffeeza teyayitibwanga kintu kya muwendo. Kabaka yalina empingu y'amaato agasobola ennyanja ennene. Empingu eyo yagendanga n'eya Hiraamu. Buli myaka esatu yakomangawo ng'ereese zaabu ne ffeeza, n'amasanga n'enkobe ne zimuzinge. Bw'atyo Kabaka Solomooni n'asinga bakabaka bonna ku nsi obugagga n'amagezi. Bakabaka bonna ku nsi bajjanga okulaba Solomooni, okuwulira eby'amagezi Katonda ge yamuwa. Buli omu eyajjanga, ng'amuleetera amakula: ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu, ebyambalo n'ebyokulwanyisa, n'ebyakawoowo, embalaasi n'ennyumbu. Ebyo byabanga bya buli mwaka. Solomooni era yalina ebisibo enkumi nnya eby'embalaasi n'amagaali gaazo, n'abeebagazi b'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga ebirimu amagaali ne mu Yerusaalemu, ye yennyini mwe yali. Ye yafuganga bakabaka bonna bonna okuva ku mugga Ewufuraate, okutuuka ku nsi y'Abafilistiya, ne ku nsalo eya Misiri. Mu biseera bye, ffeeza yayala mu Yerusaalemu, n'aba mungi ng'amayinja, n'emivule ne giba mingi, ng'emisikamoreya mu biwonvu bya Buyudaaya. Baaleeteranga Solomooni embalaasi nga baziggya mu Misiri n'awalala wonna. Ebirala byonna Solomooni bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Natani Omulanzi, ne mu Byalangibwa Ahiya Omusiilo, ne mu By'Okulabikirwa kwa Yiddo Omulanzi, ebifa ku Yerobowaamu, mutabani wa Nebaati. Solomooni yafugira Yisirayeli mu Yerusaalemu emyaka amakumi ana. Oluvannyuma ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Mutabani we Rehobowaamu n'amusikira. Awo Rehobowaamu n'agenda e Sekemu, Abayisirayeli bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, eyali adduse Solomooni n'agenda mu Misiri, bwe yakiwulira n'akomawo. Ne bamutumya ajje. Bwe yajja, ye n'Abayisirayeli bonna ne bagenda ne bagamba Rehobowaamu nti: “Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito. Ggwe bw'onootuwewulira ku buzito obwo, n'otukendeereza ku kikoligo ekyo, tunaakuweerezanga.” Rehobowaamu n'abagamba nti: “Mukomeewo mundabe nga wayiseewo ennaku ssatu.” Abantu ne bagenda. Kabaka Rehobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Solomooni kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya?” Ne bamuddamu nti: “Abantu bano bw'onoobakwasa ekisa n'obasanyusa era n'obagamba ebigambo ebirungi, olwo banaabanga baweereza bo ennaku zonna.” Kyokka n'aleka amagezi g'abantu abakulu ge baamuwa, ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye, era abaali bamuweereza. N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa mmwe? Nziremu ntya abantu abaŋŋambye nti: ‘Wewula ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ” Awo abavubuka abaakula naye, ne bamugamba nti: “Abantu abo abakugambye nti kitaawo yabateekangako ekikoligo ekizito, naye ggwe okibawewuleko, bagambe nti: ‘Akagalo kange aka nasswi, kanene okusinga ekiwato kya kitange. Kale nno oba nga kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.’ ” Ku lunaku olwokusatu, Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Kabaka Rehobowaamu, nga bwe yali abalagidde okudda gy'ali ku lunaku olwokusatu. Awo kabaka Rehobowaamu n'abaddamu n'ebboggo, ng'avudde ku kiri abantu abakulu kye baamuwabulamu. N'akolera ku magezi, abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti: “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo. Naye nze nja kubakangavvula na mbooko eriko amalobo agasuna.” Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu kye baagala. Kubanga Mukama Katonda ekyo kye yayagala, alyoke atuukirize kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ng'ayita mu Ahiya Omusiilo. Abayisirayeli bonna bwe baalaba nga Kabaka tabawulirizza, ne bamuddamu nti: “Kiki kye tweguya ku Dawudi? Ddala mutabani wa Yesse agenda kutuwa ki? Kale Abayisirayeli, tugende. Buli muntu yeddireyo ewaabwe, n'ab'ennyumba ya Dawudi beerabirire!” Awo Abayisirayeli bonna ne baddayo ewaabwe. Rehobowaamu n'afuga Abayisirayeli abo bokka ab'omu kitundu kya Buyudaaya. Awo Kabaka Rehobowaamu n'atuma mu Bayisirayeli Haduraamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze. Ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Rehobowaamu n'ayanguwa okwesogga ekigaali kye, n'addukira e Yerusaalemu. Okuva olwo Abayisirayeli ab'omu bitundu eby'omu bukiikakkono, ne bajeemera ab'ennyumba ya Dawudi n'okutuusa kati. Awo Rehobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemu, n'akuŋŋaanya mu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana, okulwanyisa Abayisirayeli abo, alyoke abakomyewo mu bwakabaka bwe. Kyokka Mukama Katonda n'agamba musajja we Semaaya nti: “Gamba Rehobowaamu mutabani wa Solomooni, Kabaka wa Buyudaaya, n'Abayisirayeli bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini nti: ‘Mukama agamba nti temulumba baganda bammwe kubalwanyisa. Muddeeyo buli omu mu maka ge, kubanga ebyabaawo, nze nayagala bibe bwe bityo.’ ” Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu. Awo Rehobowaamu n'abeera mu Yerusaalemu, n'azimba mu Buyudaaya ebibuga bino eby'okwerindiramu: Betilehemu ne Etamu ne Tekowa, ne Betizuuri ne Soko ne Adullamu, ne Gaati ne Moresa ne Zifu; ne Adorayimu ne Lakisi, ne Azeka; ne Zora ne Ayalooni, ne Heburooni, ebiriko ebigo ebigumu mu kitundu kya Yuda ne mu kya Benyamiini. N'abinywereza ddala, n'abiteekamu ababikulira, era n'aterekamu emmere n'omuzigo n'omwenge Ogw'emizabbibu. Era ebibuga ebyo byonna n'abiteekamu engabo n'amafumu. Bw'atyo n'akuuma ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini nga babe. Awo bakabona n'Abaleevi ab'omu Yisirayeli yonna ne bava yonna gye baali babeera, ne bajja eri Rehobowaamu. Abaleevi baalekangayo amalundiro gaabwe n'ebibanja, ne bajja mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, kubanga Yerobowaamu n'abaamusikira, baabagoba, ne babagaana okukola omulimu gwabwe ogw'okuweereza Mukama mu bwakabona. Yerobowaamu yeeteerawo bakabona ababe, ab'emisambwa mu bifo ebigulumivu, n'ab'ebifaananyi by'ennyana bye yakola. Abantu ab'omu bika byonna ebya Yisirayeli abaalina omutima ogwagala okusinza Mukama Katonda wa Yisirayeli, ne bajja e Yerusaalemu okuwaayo ebitambiro eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Buyudaaya, era ne bamala emyaka esatu nga bawagira Rehobowaamu, mutabani wa Solomooni. Era mu myaka egyo esatu, obulamu ne buba nga bwe bwabanga mu biseera bya Dawudi n'ebya Solomooni. Awo Rehobowaamu n'awasa Mahalati muwala wa Yerimooti, mutabani wa Dawudi, nga nnyina ye Abihayili, muwala wa Eliyaabu, mutabani wa Yesse. N'amuzaalira abaana ab'obulenzi: Yewusi ne Samariya, ne Zahumu. Bwe yamala okuwasa oyo, n'awasa ne Maaka, muwala wa Abusaalomu, eyamuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza, ne Selomiti. Rehobowaamu yayagala Maaka, muwala wa Abusaalomu okukira bakyala be abalala bonna n'abazaana be bonna. Bonna awamu yawasa abakyala kkumi na munaana, n'abazaana nkaaga. N'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana, n'ab'obuwala nkaaga. Rehobowaamu yalondamu Abiya, mutabani wa Maaka okukulira baana banne bonna, kubanga gwe yayagala amusikire. Yakozesa magezi, n'ateeka batabani be mu bitundu byonna ebya Yuda n'ebya Benyamiini, okubirabirira, mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu. N'abawa ebintu bingi, era n'abawasiza abakazi bangi. Awo Rehobowaamu bwe yamala okwenyweza ku bwakabaka, n'aba wa maanyi, ye wamu n'Abayisirayeli bonna ne bava ku Mateeka ga Mukama. Olw'okuba nga baajeemera Mukama, mu mwaka ogwokutaano ogwa Kabaka Rehobowaamu, Sisaki Kabaka wa Misiri n'alumba Yerusaalemu, ng'alina eggye eryalimu amagaali lukumi mu bibiri, n'abeebagazi b'embalaasi emitwalo mukaaga, n'abaserikale abalala abatabalika: Abalibiya, Abasukimu, n'Abeetiyopiya. N'awamba ebibuga ebiriko ebigo ebigumu mu Buyudaaya, n'atuuka e Yerusaalemu. Awo Semaaya omulanzi n'ajja eri Rehobowaamu n'eri abakungu ba Buyudaaya abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu okudduka Sisaki. N'abagamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Munvuddeko, nange kyenvudde mbawaayo eri Sisaki.’ ” Kabaka n'abakungu ba Yisirayeli ne beetoowaza, ne bagamba nti: “Mukama mutuufu.” Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, n'agamba Semaaya nti: “Nga bwe beetoowazizza, sijja kubazikiriza, naye nja kubaddiramu. Obusungu bwange sijja kubumalira ku Yerusaalemu, nga Sisaki akirumbye. Wabula baliba baweereza be, balyoke balabe enjawulo mu kuweereza nze, n'okuweereza bakabaka ab'ensi.” Awo Sisaki, Kabaka wa Misiri n'ajja, n'alumba Yerusaalemu, n'anyaga ebyobugagga byonna eby'omu Ssinzizo n'eby'omu lubiri lwa kabaka, n'abitwala byonna. N'atwaliramu n'engabo eza zaabu, Solomooni ze yali akoze. Kabaka Rehobowaamu n'akola engabo ez'ekikomo okudda mu kifo kya ziri n'azikwasa abakulu b'abakuumi b'emiryango gy'olubiri. Kabaka buli lwe yabanga agenda okuyingira mu Ssinzizo, bajjanga ne bazikwata, oluvannyuma ne bazizzaayo mu kisenge ky'abakuumi. Rehobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n'atamusunguwalira kumuzikiriza, ne Buyudaaya, ebintu ne bigigendera bulungi. Bw'atyo Rehobowaamu ne yenyweza mu Yerusaalemu, n'afuga. Yali wa myaka amakumi ana mu gumu we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemu, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu nsi ya Yisirayeli yonna okumusinzizangamu. Nnyina Rehobowaamu, yali Naama Omwammoni. Rehobowaamu yakola bubi, kubanga teyafuba kukola Mukama by'ayagala. Rehobowaamu bye yakola, okuva lwe yatandika okufuga, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu byaliwo mu biseera bya Semaaya Omulanzi, ne Yiddo Omulanzi. Entalo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu zaabangawo lutata. Rehobowaamu, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Mutabani we Abiya n'amusikira. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu, Abiya n'afuuka Kabaka wa Bayudaaya. N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Mikaaya, muwala wa Wuriyeeli ow'e Gibeya. Ne wabaawo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. Abiya n'ayungula eggye ery'abalwanyi abazira, emitwalo amakumi ana. Yerobowaamu n'asitula eggye ery'abalwanyi abalondobe ab'amaanyi era abazira, emitwalo kinaana okumulwanyisa. Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemarayimu olw'omu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, n'agamba nti: “Ggwe Yerobowaamu, nammwe Abayisirayeli mwenna, muwulire kye ŋŋamba. Temumanyi nga Mukama Katonda wa Yisirayeli yawa Dawudi n'ab'ezzadde lye obwakabaka bwa Yisirayeli emirembe gyonna mu ndagaano eterikyuka? Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebaati omuweereza wa Solomooni mutabani wa Dawudi, yasituka n'ajeemera mukama we. Abasajja abataliimu nsa ne bamukuŋŋaanirako, ne beewaggula ku Rehobowaamu mutabani wa Solomooni, aleme kuba kabaka waabwe. Rehobowaamu yali akyali muto era nga tannafuna bumanyirivu kubaziyiza. Kaakano muteesa kya kulwanyisa bwakabaka bwa Mukama, bwe yawa ab'ezzadde lya Dawudi. Muli ggye ddene, era mulina ebifaananyi by'ente ebya zaabu, Yerobowaamu bye yabakolera okuba balubaale bammwe. Mwagoba bakabona ba Mukama, ab'olulyo lwa Arooni era n'Abaleevi. Mu kifo kyabwe ne mulonderamu bakabona, ng'ab'amawanga amalala bwe bakola. Buli ajja okutukuzibwa ng'aleese ente ennume ento n'endiga ennume musanvu, mumukkiriza okufuuka kabona w'ebyo ebitali Katonda. “Naye ffe tukyaweereza Mukama Katonda waffe, tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, ba lulyo lwa Arooni. Era Abaleevi babayambako. Buli nkya na buli kawungeezi banyookeza obubaane eri Mukama, era bawaayo ebitambiro ebyokebwa. Bateeka ku mmeeza entukuvu emigaati egiweebwayo. Era buli kawungeezi balabirira ekikondo ky'ettaala ekya zaabu, okulaba nti ettaala zaakyo zaaka. Tukola ebyo Mukama Katonda waffe bye yalagira. Naye mmwe mwamuvaako. Katonda yennyini ye mukulembeze waffe. Ne bakabona be, bali wano nga bakutte amakondeere okufuuyira ab'okubalwanyisa mmwe. Kale Abayisirayeli, temulwanyisa Mukama Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.” Mu kaseera ako, Yerobowaamu yali asindise abamu ku batabaazi be, okuteega eggye lya Buyudaaya nga baliva emabega, ate ekibiina ekirala ne kirirumba, nga kiriva mu maaso. Abayudaaya baagenda okukebuka, nga balaba olutalo lubafulumye mu maaso n'emabega, ne beegayirira Mukama abawonye. Ne bakabona ne bafuuwa amakondeere. Abayudaaya ne baleekaana nnyo. Bwe baaleekaana ennyo, Katonda n'awangula Yerobowaamu n'Abayisirayeli bonna, nga Abiya n'Abayudaaya balaba! Abayisirayeli ne badduka Abayudaaya, Katonda n'asobozesa Abayudaaya okuwangula Abayisirayeli. Abiya n'eggye lye ne bawangulira ddala Abayisirayeli, Abayisirayeli ne bafiirwa abaserikale baabwe abazira emitwalo amakumi ataano. Bwe batyo Abayisirayeli bwe baatoowazibwa ku mulundi ogwo, Abayudaaya ne bawangula, kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Awo Abiya n'awondera Yerobowaamu, n'awamba ebibuga bye: Beteli, ne Yesana ne Efurooni, n'ebyalo ebyali bibiriraanye. Mu mirembe gya Abiya, Yerobowaamu teyaddayo kuba wa maanyi. N'oluvannyuma Mukama n'alwaza Yerobowaamu, Yerobowaamu n'akisa omukono. Kyokka Abiya n'afuuka wa maanyi. N'awasa abakazi kkumi na bana. N'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri, n'ab'obuwala kkumi na mukaaga. Ebirala Abiya bye yakola, n'empisa ze, ne bye yayogera, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Yiddo Omulanzi. Awo Abiya ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi. Mutabani we Asa n'amusikira. Mu biseera bya Asa, ensi n'efuna emirembe okumala emyaka kkumi. Asa n'akola ebirungi era ebituufu, ebisiimibwa Mukama Katonda we. N'aggyawo alutaari z'abagwira mu bifo ebigulumivu, n'amenya empagi ze basinza ez'amayinja, era n'atemaatema ebifaananyi bya lubaale Asera. N'alagira abantu b'omu Buyudaaya okukola ebyo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe by'ayagala, n'okukwata amateeka ge n'ebiragiro bye. Era mu bibuga byonna eby'omu Buyudaaya, n'aggyawo ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu ne alutaari ezooterezebwako obubaane. Obwakabaka ne buba mirembe mu biseera bye. N'azimba ebigo ebigumu okwetoolooza ebibuga byonna eby'omu Buyudaaya, kubanga ensi yalimu emirembe. Mu myaka egyo, Asa teyalina ntalo, kubanga Mukama yamuwa emirembe. Yagamba abantu b'omu Buyudaaya nti: “Tuzimbe ebibuga bino, tubyetooloozeeko ebigo ebigumu n'eminaala, n'emiryango egiriko ebisiba. Ensi ekyali yaffe, kubanga tukoze ebyo Mukama Katonda waffe by'ayagala. Tukoze by'ayagala, n'atuwa emirembe ku buli ludda.” Awo ne bazimba, ne baba bulungi. Kabaka Asa yalina eggye lya basajja emitwalo amakumi asatu, okuva mu Kika kya Yuda, abakwata engabo n'amafumu, n'abasajja emitwalo abiri mu munaana, okuva mu Kika kya Benyamiini, abalina engabo n'emitego gy'obusaale. Abo bonna baali basajja ba maanyi, bazira. Awo Zeera Omwetiyopiya n'abalumba n'eggye lya basajja akakadde kamu, n'amagaali ebikumi bisatu. N'ajja n'atuuka e Maresa. Awo Asa n'avaayo okumwolekera. Enjuyi zombi ne zoolekaganira mu kiwonvu ky'e Zefata, okumpi ne Meresa. Asa ne yeegayirira Mukama Katonda we ng'agamba nti: “Ayi Mukama, ggwe oyanguyirwa okuyamba abanafu, nga bw'oyanguyirwa okuyamba ab'amaanyi. Tuyambe, ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesiga ggwe, era tuzze mu linnya lyo okulwanyisa eggye lino eddene. Ayi Mukama, ggwe Katonda waffe. Oleme kukkiriza muntu kukuwangula.” Awo Mukama n'awangula Abeetiyopiya, nga Asa n'Abayudaaya balaba. Abeetiyopiya ne badduka. Asa ne be yali nabo ne babawondera okutuuka e Gerari. Abeetiyopiya bangi nnyo ne battibwa, eggye lyabwe ne litasobola kuddamu kulwana, kubanga Mukama n'eggye lye baabawangulira ddala. Abayudaaya ne banyaga ebintu bingi nnyo, ne bazikiriza ebibuga ebyetoolodde Gerari, kubanga Mukama abantu baayo yabakuba entiisa. Ne banyaga ebibuga ebyo byonna, kubanga byalimu ebintu bingi eby'okunyaga. Era ne balumba ensiisira z'abamu ku basumba, ne banyaga endiga n'eŋŋamiya nnyingi nnyo, ne baddayo e Yerusaalemu. Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Azariya, mutabani wa Obedi, Azariya oyo n'agenda ewa Asa, n'amugamba nti: “Ayi Kabaka Asa, nammwe aba Yuda n'aba Benyamiini, muwulire kye ŋŋamba. Mukama ali nammwe, singa nammwe muba naye. Bwe mumunoonya, mumuzuula. Bwe mumuvaako, naye ng'abavaako. Abayisirayeli baamala ebbanga ddene nga tebalina Katonda ow'amazima, era nga tebalina kabona ayigiriza, era nga tebalina wadde amateeka. Naye bwe baabonaabona, ne bakyukira eri Mukama Katonda wa Yisirayeli, ne bamunoonya, ne bamuzuula. Mu biseera ebyo, tewaali muntu yatambulanga mirembe, n'agenda n'adda nga bw'ayagala, kubanga mu bitundu byonna eby'eggwanga, abatuuze bonna baabanga mu kweraliikirira. Tewaali kwegatta: ekitundu ekimu nga kirumba ekitundu ekirala, n'ekibuga ekimu nga kirumba kibuga kinnaakyo, kubanga Katonda yabaleetera okweraliikirira, ng'abatuusa ku kubonaabona okwa buli ngeri. Naye mube bagumu, temuddirira, muliweebwa empeera olw'ebyo bye mukola.” Asa bwe yawulira ebigambo ebyo eby'obulanzi, Azariya mutabani wa Obedi bye yayogera, n'aguma omwoyo. N'aggyawo ebifaananyi byonna ebyasinzibwanga mu nsi eya Yuda n'eya Benyamiini, n'ebyo ebyali mu bibuga byonna, bye yawamba mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu. Era alutaari ya Mukama eyali mu maaso g'Essinzizo n'agizza buggya. Awo Asa n'akuŋŋaanya ab'Ekika kya Yuda bonna, n'Ababenyamiini, n'abalala abaabeeranga mu bo, nga bava mu bitundu: ekya Efurayimu, n'ekya Manasse, n'ekya Simyoni. Kubanga bangi nnyo abaava mu Yisirayeli ne basenga mu bwakabaka bwe, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye. Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemu, mu mwezi ogwokusatu, mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obufuzi bwe. Ku lunaku olwo ne bawaayo ebitambiro eri Mukama: ente lusanvu, n'endiga kasanvu, nga baggya ku munyago gwe baaleeta. Ne bakola endagaano nti Mukama Katonda wa bajjajjaabwe banaamusinzanga n'omutima gwabwe gwonna, n'emmeeme yaabwe yonna. Buli muntu, oba mukulu oba muto, oba musajja oba mukazi, anaagaananga okusinza Mukama Katonda wa Yisirayeli, anattibwanga. Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery'omwanguka, nga baleekaana, era nga bafuuwa amakondeere n'eŋŋombe. Abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne basanyukira okulayira okwo, kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna. Baanoonya Mukama n'omutima gwabwe gwonna, ne bamuzuula. Mukama n'abawa emirembe ku njuyi zonna. Era Kabaka Asa n'assaako n'okugoba Maaka nnyina ku bwannamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi kya lubaale Asera eky'omuzizo. Asa n'akitema, n'akyasaayasa, n'akyokera ku kagga Kidurooni. Asa newaakubadde teyasaanyizaawo ddala mu Yisirayeli bifo ebigulumivu bye basinzizaamu, kyokka yanywerera ku Mukama obulamu bwe bwonna. Yateeka mu Ssinzizo ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza, kitaawe bye yawongera Katonda, era n'ebyo ye yennyini bye yawonga. Ne watabaawo ntalo ndala okutuusa mu mwaka ogw'asatu mu etaano ogw'obufuzi bwe. Mu mwaka ogw'asatu mu omukaaga ogw'obufuzi bwa Asa, Baasa, Kabaka wa Yisirayeli n'alumba Buyudaaya. N'azimba ekigo ekigumu ku kibuga Raama, waleme kubaawo asobola okuva mu Buyudaaya, wadde okugendayo, okutuuka ku Asa, kabaka waayo. Awo Asa n'aggya ffeeza ne zaabu mu ggwanika ly'Essinzizo, ne mu lubiri lwe, n'abiweereza Benihadadi, Kabaka wa Siriya, eyabeeranga e Damasiko, ng'amutumira nti: “Tukole endagaano ey'okukolaganiranga awamu, nga bakitaffe gye baakola. Nkuweerezza ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano y'enkolagana ne Baasa, Kabaka wa Yisirayeli, anveeko.” Benihadadi n'akkiriza Kabaka Asa kye yamusaba. N'atuma abakulu b'amagye ge, okulumba ebibuga bya Yisirayeli. Ne bawamba Yiyoni, ne Daani ne Abeli Ayimu, n'ebibuga byonna ebya Nafutaali ebiterekebwamu ebintu. Baasa bwe yawulira ebiguddewo, n'alekera awo okuzimba Raama, n'ayimiriza omulimu. Awo Kabaka Asa n'atwala ab'omu Buyudaaya bonna, ne baggyawo amayinja n'emiti, Baasa bye yazimbisanga e Raama, Asa n'abizimbisa Geba ne Mizupa. Mu kiseera ekyo, omulanzi Hanani n'agenda ewa Asa Kabaka wa Buyudaaya, n'amugamba nti: “Kubanga weesize Kabaka wa Siriya, n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya Yisirayeli kyelivudde likusumattuka. Abeetiyopiya n'Abalibiya tebaali ggye ddene nnyo, omuli amagaali n'abeebagazi b'embalaasi abangi ddala? Naye kubanga weesiga Mukama, Mukama yabakuwa n'obawangula. Amaaso ga Mukama galaba eno n'eri okubuna ensi yonna, okweraga nga bw'ali ow'amaanyi mu kukuuma abo ab'omutima ogumweweera ddala. Kino ky'okoze kya busiru. Okuva kati onoobanga n'entalo.” Awo Asa n'asunguwalira nnyo omulanzi olw'ebigambo ebyo, kyeyava amukwata n'amuteeka mu kkomera. Mu biseera ebyo, Asa n'ayisa bubi abantu abamu. Asa bye yakola okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya Bassekabaka ba Buyudaaya n'aba Yisirayeli. Asa mu mwaka gwe ogw'amakumi asatu mu omwenda ku bwakabaka, n'alwala ebigere, n'aba bubi nnyo. Naye newaakubadde yalumizibwa nnyo, n'atasaba Mukama kumuwonya, wabula n'akozesa basawo. Mu mwaka gwe ogw'amakumi ana mu ogumu ku bwakabaka, ne yeegatta ku bajjajjaabe. N'aziikibwa mu ntaana yennyini gye yeesimira mu lwazi, mu kibuga kya Dawudi. Enjole ye n'egalamizibwa ku katanda akajjudde ebyakawoowo ebingi era ebya buli ngeri, ebyategekebwa abazirazi abakugu. Ne bakuma ekyoto kinene okumukungubagira. Awo Yehosafaati n'asikira Asa kitaawe, era ne yeenyweza okulwanyisa Yisirayeli. N'ateeka amagye mu bibuga byonna eby'omu byalo ebya Buyudaaya, ne mu bibuga by'omu Efurayimu, Asa kitaawe bye yawamba. Katonda n'awa Yehosafaati omukisa, kubanga yagoberera empisa ennungi eza kitaawe ezasooka, ez'obutasinzanga balubaale abayitibwa Baali. N'aweerezanga Katonda wa kitaawe, ng'akwata ebiragiro bye n'atagoberera ebyo ab'omu Yisirayeli bye baakolanga. Mukama kyeyava anyweza obwakabaka bwa Yehosafaati, ab'omu Buyudaaya bonna ne baleetera Yehosafaati amakula, n'agaggawala era n'aba wa kitiibwa nnyo. Ne yeenyumiririza mu kuweereza Mukama, era n'aggyawo mu Buyudaaya ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, n'ebifaananyi bya lubaale Asera. Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'atuma abakungu be: Benihayili ne Obadiya, ne Zekariya, ne Netaneeli, ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Buyudaaya. Awamu nabo n'atuma n'Abaleevi Semaaya, Netaniya, Zebadiya, Asaheeli, Semiramoti, Yehonataani, Adoniya, Tobiya, ne Tabadoniya. Awamu n'Abaleevi abo, n'atuma ne bakabona Elisaama ne Yeyoraamu. Ne batwala ekitabo ky'Amateeka ga Mukama, ne bayigiriza ab'omu Buyudaaya. Ne bayitaayita mu bibuga byonna ebya Buyudaaya, nga bayigiriza abantu. Mukama n'akuba entiisa ab'omu bwakabaka bwonna obwetoolodde Buyudaaya, ne batalwanyisa Yehosafaati. Abamu ku Bafilistiya ne baleetera Yehosafaati amakula, ne bamuwa n'omusolo mu ffeeza. Abawarabu nabo ne bamutonera endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n'embuzi ennume kasanvu mu lusanvu. Yehosafaati ne yeeyongera okuba ow'obuyinza, n'azimba ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu. N'aba n'amawanika mangi mu bibuga bya Buyudaaya. N'ateeka mu Yerusaalemu abaserikale, abasajja ab'amaanyi era abazira, nga batereezeddwa mu bika byabwe. Aduna ye yali akulira banne abaduumira ebibinja by'olukumi lukumi, ab'omu Kika kya Yuda, nga bonna awamu akulira abaserikale ab'amaanyi emitwalo amakumi asatu. Yehohanaati ye yali omuduumizi amuddirira, ng'akulira abaserikale emitwalo amakumi abiri mu munaana. Owookusatu yali Amasiya, mutabani wa Zikuri, ng'akulira abaserikale ab'amaanyi emitwalo amakumi abiri. Amasiya ono, ye yeewaayo yekka okuweereza Mukama. Omuduumizi w'ebibinja by'eggye ly'Ababenyamiini yali Eliyaada, omuserikale omuzira, ng'akulira abaserikale emitwalo amakumi abiri, abalina obusaale n'engabo. Eyali amuddirira mu bukulu, yali Yehozabaadi, ng'akulira abaserikale omutwalo gumu mu kanaana, abategeke obulungi mu by'okulwana. Abo be baaweerezanga kabaka, nga tobaliddeeko abo be yateeka mu bibuga ebyaliko ebigo ebigumu mu Buyudaaya bwonna. Yehosafaati bwe yamala okugaggawala n'okuba ow'ettutumu ennyo, n'afuuka mukoddomi wa Ahabu. Bwe waayitawo emyaka, n'agenda e Samariya ewa Ahabu. Ahabu n'amuttira, n'abo be yali nabo, endiga n'ente nnyingi nnyo, era n'amusikiririza okugenda naye okulumba ekibuga Ramoti Gileyaadi. Ahabu Kabaka wa Yisirayeli n'abuuza Yehosafaati Kabaka wa Buyudaaya nti: “Onoogenda nange okulumba Ramoti Gileyaadi?” Yehosafaati n'addamu nti: “Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo. Tujja kuba naawe mu lutalo.” Yehosafaati era n'agamba Kabaka wa Yisirayeli nti: “Nsaba omale kwebuuza ku Mukama, owulire ky'agamba.” Awo Kabaka wa Yisirayeli n'akuŋŋaanya abalanzi ebikumi bina, n'ababuuza nti: “Tulumbe Ramoti Gileyaadi, oba ndekeyo?” Ne baddamu nti: “Genda okirumbe. Katonda ajja kukikuwa okiwangule.” Naye Yehosafaati n'agamba nti: “Wano tewakyali mulanzi wa Mukama, tumwebuuzeeko?” Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Wakyaliwo omusajja omu gwe tuyinza okuyitamu okwebuuza ku Mukama. Oyo ye Mikaaya, mutabani wa Yimula. Wabula simwagala, kubanga talangangako birungi ku nze, wabula ebibi ebyereere.” Yehosafaati n'agamba nti: “Kabaka, toyogera bw'otyo.” Awo Kabaka wa Yisirayeli n'ayita omukungu we, n'amugamba nti: “Yanguwa oleete wano Mikaaya, mutabani wa Yimula.” Kabaka wa Yisirayeli ne Yehosafaati Kabaka wa Buyudaaya, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka, ne batuula buli omu ku ntebe ye, mu mbuga eri okumpi n'omulyango omunene ogwa Samariya. Abalanzi bonna ne balanga mu maaso gaabwe. Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana, ne yeekolera amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amayembe gano g'oneeyambisa okulwanyisa Abassiriya, okutuusa lw'olibasaanyaawo.’ ” N'abalanzi abalala bonna ne balanga bwe batyo, nga bagamba nti: “Genda olumbe Ramoti Gileyaadi, okiwangule. Mukama ajja kukikuwa okiwangule.” Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya, n'amugamba nti: “Abalanzi abalala bonna ebigambo bye boogedde birungi. Balanze nti Kabaka ajja kuwangula. Nkwegayiridde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere ebirungi.” Kyokka Mikaaya n'addamu nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaagamba kye nja okwogera.” Awo bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, tulumbe Ramoti Gileyaadi tukirwanyise, oba ndekeyo?” Mikaaya n'addamu nti: “Mugende mukirumbe, mujja kuwangula. Mukama ajja kubakuwa obawangule.” Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaakulayiza emirundi emeka nti bw'oba ombuulira mu linnya lya Mukama, tombuulira kirala kyonna, okuggyako amazima?” Mikaaya n'agamba nti: “Ndabye Abayisirayeli bonna nga basaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba. Mukama n'agamba nti: ‘Abo tebalina mukama waabwe. Buli omu addeyo mirembe mu maka ge.’ ” Awo kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Saakugambye nti taalange birungi ku nze, wabula ebibi?” Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti: “Kale muwulire ekigambo kya Mukama. Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye, ng'eggye lyonna ery'omu ggulu liyimiridde ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono.” Mukama n'abuuza nti: “Ani anaasendasenda Ahabu Kabaka wa Yisirayeli ayambuke e Ramoti Gileyaadi attibwe?” Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri. Awo ne wavaayo omwoyo, ne guyimirira mu maaso ga Mukama, ne gugamba nti: “Nze nja kumusendasenda.” Mukama n'agubuuza nti: “Mu ngeri ki?” Ne guddamu nti: “Nja kugenda njogeze abalanzi be bonna eby'obulimba.” Mukama n'agamba nti: “Ojja kusobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.” Mikaaya n'afundikira ng'agamba nti: “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa k'abalanzi bo bonna, era ggwe akwogeddeko bya kabi.” Awo Zeddeekiya, mutabani wa Kenaana, n'asemberera Mikaaya, n'amukuba oluyi ku luba, n'amugamba nti: “Mwoyo wa Mukama yampitako atya, n'ayogera naawe?” Mikaaya n'addamu nti: “Ddala, ekyo olikiraba lw'oliyingira mu kisenge ekyomunda okwekweka.” Awo Kabaka wa Yisirayeli n'alagira nti: “Mukwate Mikaaya, mumutwale ewa Amoni omukulu w'ekibuga, n'omulangira Yowaasi. Mubagambe nti: ‘Kabaka alagidde nti akasajja ako mukateeke mu kkomera. Emmere n'amazzi mukawe mpa we bizira, okutuusa nga nkomyewo mirembe.’ ” Awo Mikaaya n'agamba nti: “Bw'olikomawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti: “Muwulire, abantu mwenna, kye njogedde.” Awo Kabaka wa Yisirayeli ne Yehosafaati Kabaka wa Buyudaaya, ne balumba ekibuga Ramoti Gileyaadi. Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Okuyingira mu lutalo, nze nja kugenda nga nneefuddefudde, naye ggwe ojja kwambala ebyambalo byo eby'obwakabaka.” Awo ne bagenda mu lutalo, nga Kabaka wa Yisirayeli yeefuddefudde. Kabaka wa Siriya yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge abaali naye nti: “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.” Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yehosafaati, ne bagamba nti: “Ono ye kabaka wa Yisirayeli.” Ne bakyuka okumulwanyisa. Kyokka Yehosafaati n'alaajana nnyo, Mukama Katonda n'amuyamba, n'abawugula ne bamuvaako. Abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Yisirayeli, ne balekera awo okumuwondera. Kyokka ne wabaawo omusajja omu eyasika omutego, n'amala galasa akasaale, ne kakwasa kabaka wa Yisirayeli, ekyambalo kye eky'ekyuma we kigattira mu kifuba. Kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti: “Kyusa eggaali, onzigye mu lutalo, kubanga banfumise.” Awo olutalo bwe lwanyinnyittira ennyo ku lunaku olwo, kabaka wa Yisirayeli ne yeesigaamiriza mu ggaali lye okwolekera Abassiriya okutuusa olweggulo. Enjuba bwe yali ng'egwa, n'akisa omukono. Awo Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, n'akomawo mirembe mu lubiri lwe e Yerusaalemu. Omulanzi Yehu, mutabani wa Hanani n'avaayo okusisinkana Kabaka Yehosafaati, n'amugamba nti: “Kisaanye ggwe okuyamba ababi, n'okwagala abakyawa Mukama? Olw'ekikolwa ekyo, Katonda akusunguwalidde. Kyokka mu ggwe, era mukyalimu ebirungi. Kubanga waggyawo ebifaananyi bya lubaale Asera mu nsi yo, era n'ofuba okukola ebyo Katonda by'ayagala.” Awo Yehosafaati n'abeera mu Yerusaalemu. N'avaayo omulundi omulala, n'agenda mu bantu, okuva e Beruseba okutuuka mu bitundu bya Efurayimu eby'ensozi, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. N'assaawo abalamuzi mu buli kibuga ky'omu Buyudaaya ekiriko ekigo ekigumu. N'akuutira abalamuzi abo nti: “Mwetegereze kye mukola, kubanga temulamulira ku buyinza bwa bantu, wabula mulamulira ku bwa Mukama, abeera awamu nammwe nga musala emisango. Kale nno mutye Mukama, musseeko omwoyo ku bye mukola, kubanga Mukama Katonda waffe tagumiikiriza kukyamya nsonga, newaakubadde okusaliriza, wadde okulya enguzi.” Mu Yerusaalemu, Yehosafaati n'ateekamu Abaleevi ne bakabona n'abamu ku bakulu b'empya mu Yisirayeli, okusalanga emisango egy'obumenyi bw'Amateeka ga Mukama, n'okulamulanga enkaayana z'abatuuze. Baabeeranga mu Yerusaalemu. Awo n'abakuutira ng'agamba nti: “Musaana mukole omulimu gwammwe nga mussaamu Mukama ekitiibwa, nga muli beesigwa, era nga mussaako nnyo omwoyo. Baganda bammwe ababeera mu bibuga byabwe, bwe babaleeteranga emisango oba egy'obutemu, oba egy'okumenya amateeka oba ebiragiro oba okusobya ebibalagirwa byonna, mubalabulenga, baleme okunyiiza Mukama, sikulwa nga mmwe ne baganda bammwe abo, Mukama abasunguwalira. Mukolenga bwe mutyo, muleme kubaako musango. Amariya Ssaabakabona, ye anaabalabiriranga mu ebyo byonna ebifa ku Mukama. Zebadiya mutabani wa Yisimayeli, omukulu w'ennyumba ya Yuda, ye anaabalabiriranga mu byonna ebifa ku kabaka. Abaleevi be banaalabanga nti ebisaliddwawo bituukirizibwa. Mube n'obuvumu, mukole, era Mukama ayambenga abakola ebituufu.” Ebyo bwe byaggwa, Abamowaabu n'Abammoni, n'abamu ku Bamewuni, ne balumba Yehosafaati mu lutalo. Ne wajja abantu ne bagamba Yehosafaati nti: “Eggye eddene lizze okukulumba, nga liva mu Edomu, emitala w'ennyanja. Kaakati liri Hazazoni Tamari, (ye Engedi).” Yehosafaati n'atya, ne yeewaayo okwegayirira Mukama, n'alangirira ekisiibo mu Buyudaaya bwonna. Ab'omu Buyudaaya ne bakuŋŋaana okusaba Mukama abayambe. Ne bava mu bibuga bya Buyudaaya byonna, ne bajja okwegayirira Mukama. Awo Yehosafaati n'ayimirira mu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu abakuŋŋaanidde ku Ssinzizo mu maaso g'oluggya olupya, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa bajjajjaffe, osinziira mu ggulu n'ofuga obwakabaka bw'amawanga gonna. Olina obuyinza n'amaanyi, nga tewali ayinza kukuziyiza. Ayi Katonda waffe, abantu bo Abayisirayeli bwe bajja mu nsi eno, wagigobamu abaagirimu, n'ogiwa bazzukulu ba Aburahamu mukwano gwo, ebe yaabwe ennaku zonna. Bagibaddemu, era bakuzimbidde Essinzizo okukusinzizangamu, nga bagamba nti: ‘Bwe tunaatuukibwangako akabi, ng'olutalo, oba okusalirwa omusango, oba kawumpuli, oba enjala, tunaayimiriranga mu maaso g'Essinzizo lino, mu maaso go, kubanga mu lyo mwe tukusinziza, ne tukusindira obuyinike bwaffe, n'owulira, n'otuwonya.’ “Kale tunuulira Abammoni n'Abamowaabu, n'ab'oku Lusozi Seyiri! Bajjajjaffe bwe baava mu nsi y'e Misiri, tewabakkiriza kulumba bantu abo. Baabeebalama ne batabazikiriza. Kaakano kye batusasula, kwe kujja okutugoba mu nsi gye watuwa okuba obutaka bwaffe. Ayi Katonda waffe, obaziyize, kubanga ffe tetulina maanyi n'akatono kulwanyisa ggye ddene lino eritulumbye. Tetumanyi kye tunaakola, wabula tutunuulidde ggwe.” Abasajja bonna ab'omu Buyudaaya baali bayimiridde awo ne bakazi baabwe n'abaana baabwe, omuli n'abaana abawere. Awo Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Muleevi eyali mu baali bakuŋŋaanidde awo, ayitibwa Yahaziyeeli, mutabani wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Benaaya, Benaaya mutabani wa Yayeli, Yeyeri mutabani wa Mattaniya omu ku baana ba Asafu. Yahaziyeeli n'agamba nti: “Ayi Kabaka Yehosafaati nammwe mwenna abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, muwulire. Mukama abagamba mmwe nti: ‘Temutya, era eggye lino lireme kubaterebula, kubanga olutalo luno si mmwe munaalulwana, wabula Mukama. Enkya mugende mubalumbe. Tebaaleme kulinnyalinnyira awambukirwa Zizi. Mujja kubasanga awakoma ekiwonvu, era eddungu ly'e Yerweli we litandikira. Temujja kwetaaga kulwana lutalo luno. Mwesimbe muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe Mukama Omulokozi ali nammwe ky'akola. Mmwe abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, temutya era temuterebuka. Enkya mubalumbe, Mukama ali nammwe.’ ” Awo Yehosafaati n'avuunamira ddala ku ttaka, n'ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bavuunama mu maaso ga Mukama, ne bamusinza. Abaleevi abasibuka mu Kohati, ne mu Koora, ne bayimirira, era mu ddoboozi ery'omwanguka, ne batendereza Mukama Katonda wa Yisirayeli. Enkeera mu makya, ne basituka ne bagenda mu ddungu ly'e Tekowa. Bwe baali batandika olugendo lwabwe, Yehosafaati, n'ayimirira n'agamba nti: “Abantu b'omu Buyudaaya, nammwe ab'omu Yerusaalemu, muwulire kye ŋŋamba. Mukkirize Mukama Katonda wammwe, mulyoke mugume. Mukkirize eby'abalanzi be, lwe munaawangula.” Bwe yamala okuteesa n'abantu, n'ateekawo ab'okuyimbira Mukama okumutendereza, nga bambadde ebyambalo eby'emikolo emitukuvu, ne bakulemberamu eggye, ne bagenda nga bayimba nti: “Mutendereze Mukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.” Bwe baatandika okuyimba n'okutendereza, Mukama n'ateekawo abateezi okuteega Abammoni n'Abamowaabu, n'ab'oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Buyudaaya, ne bagugumulwa. Kubanga Abammoni n'Abamowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, ne babatta okubazikiririza ddala. Bwe baamala okusaanyaawo ab'oku Seyiri, olwo bonna ne battiŋŋana. Abayudaaya bwe baatuuka we balengerera mu ddungu, ne batunuulira eggye ly'abalabe, ne balaba nga bonna mirambo egigaŋŋalamye, nga tewali awonyeewo. Yehosafaati n'abantu be bwe bajja okubaggyako omunyago, ne babasanga n'ebyobugagga bingi, n'ebintu eby'omuwendo ennyo, bye baayambula ku mirambo ne babyetwalira, era ne bibalemerawo. Okumanya byali bingi, ne bamala ennaku ssatu nga babikuŋŋaanya. Ku lunaku olwokuna, ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu kya Beraka, ne batendereza Mukama. Okuva olwo ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa ekiwonvu kya Beraka Awo Yehosafaati n'akulembera ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu, ne baddayo e Yerusaalemu nga basanyuse, kubanga Mukama yali awangudde abalabe baabwe. Bwe baatuuka e Yerusaalemu, ne bagenda mu Ssinzizo nga balina entongooli n'ennanga, n'amakondeere. Ab'omu bwakabaka obw'omu nsi zonna bwe baawulira nga Mukama alwanyisizza abalabe ba Yisirayeli, ne batya Katonda. Awo obwakabaka bwa Yehosafaati ne butereera, kubanga Katonda yamuwa emirembe ku njuyi zonna. Yehosafaati yafuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi asatu mu etaano, n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemu. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siluhi. Yehosafaati yali wa mpisa nnungi nga Asa kitaawe. N'atazivaamu, n'akolanga ebirungi Mukama by'asiima. Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu, tebyaggyibwawo. Era n'abantu baali tebannamalira mitima gyabwe ku kusinza Katonda wa bajjajjaabwe. N'ebirala Yehosafaati bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya Yehu, mutabani wa Hanani, ne biyingizibwa mu kitabo ky'Ebyafaayo bya Bassekabaka ba Yisirayeli. Oluvannyuma Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya yeegatta ne Ahaaziya kabaka wa Yisirayeli eyakola ebibi ebingi. Yeegatta naye okukola amaato ag'okugenda e Tarusiisi, nga bagakolera mu Eziyonigeberi. Awo Eleyezeeri, mutabani wa Dadavahu ow'e Maresa, n'alabula Yehosafaati nti: “Nga bwe weegasse ne Ahaaziya, Mukama ajja kuzikiriza by'okoze.” Amaato ne gamenyekera mu nnyanja, ne gatayinza kugenda Tarusiisi. Awo Yehosafaati, n'akisa mukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa we baabaziika, mu kibuga kya Dawudi. Mutabani we Yehoraamu n'amusikira. Yehoraamu yalina baganda be: Azariya ne Yehiyeeli, ne Zekariya, ne Azariya, ne Mikayeli, ne Sefatiya, bonna batabani ba Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya. Kitaabwe yabawa ebintu bingi: ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala eby'omuwendo ennyo, awamu n'ebibuga mu Buyudaaya, ebiriko ebigo ebigumu. Kyokka obwakabaka n'abuwa Yehoraamu, kubanga ye yali omuggulanda. Yehoraamu bwe yamala okutuuzibwa ku ntebe ey'Obwakabaka bwa kitaawe, n'okwenyweza, n'atta baganda be bonna, n'abamu ku bakungu Abayisirayeli. Yehoraamu yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi asatu mu ebiri, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemu. N'agoberera empisa za bassekabaka ba Yisirayeli ze baalina, ng'ab'omu zzadde lya Ahabu bwe baayisanga. Kubanga yawasa muwala wa Ahabu, n'akola ebibi, n'anyiiza Mukama. Kyokka Mukama teyayagala kuzikiriza ba mu nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, era ng'amusuubizza nti bazzukulu be bulijjo be banaafuganga emirembe gyonna. Mu biseera bya Yehoraamu, Abeedomu ne bajeema, ne bava ku Buyudaaya, ne beeteerawo obwakabaka obwabwe. Awo Yehoraamu n'abakungu be ne basala ensalo, ne bagenda n'amagaali ge gonna okulumba Edomu. Nga bali eyo, ye n'abaduumizi b'amagaali ge, ne beetooloolwa Abeedomu. Naye ekiro ne basobola okuwaguza ne bagenda. Bwe batyo Abeedomu ne bajeemera Buyudaaya n'okutuusa kati. Era mu biseera ebyo, n'ab'e Libuna nabo ne bajeemera Yehoraamu, kubanga yava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe. Era n'akola n'ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu ku nsozi z'omu Buyudaaya, n'aleetera abantu b'omu Yerusaalemu okuva ku Mukama, n'akyamya ab'omu Buyudaaya. Awo Yehoraamu n'afuna ebbaluwa eyava ewa Eliya omulanzi, ng'egamba nti: “Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi agamba nti wagaana okugoberera empisa ennungi eza kitaawo Yehosafaati, n'eza jjajjaawo Asa ssekabaka wa Buyudaaya. Kyokka n'ogoberera empisa za bassekabaka ba Yisirayeli, abantu b'omu Buyudaaya n'abatuuze b'omu Yerusaalemu n'obaggya ku Mukama, nga Ahabu n'ab'ezzadde lye bwe baggya Abayisirayeli ku Mukama. N'ossaako n'okutta baganda bo, abaana ba kitaawo, abaali abantu abalungi okusinga ggwe. N'olwekyo abantu bo, n'abaana bo ne bakazi bo, Mukama ajja kubalwaza kawumpuli, era azikirize ebintu byo. Naawe wennyini olirwala endwadde enkakali, ebyenda byo nga birwadde, okutuusa lwe birikuvaamu olw'endwadde eyo, erikuluma obutakuweeza.” Waaliwo Abafilistiya n'Abawarabu abaali baliraanye Abeetiyopiya. Mukama n'abateekamu omwoyo ogw'okulwanyisa Yehoraamu. Ne balumba Buyudaaya, ne bagiwangula, ne banyaga ebintu byonna mu lubiri lwa kabaka. Ne banyaga ne bakazi be n'abaana be bonna okuggyako Ahaaziya mutabani we asingayo obuto. Ebyo byonna bwe byaggwa, Mukama n'alwaza Yehoraamu endwadde y'ebyenda etewonyezebwa. Awo olwatuuka, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bimuvaamu, olw'endwadde ye, n'afiira mu bulumi obutagambika. Abantu be ne batamukumira kyoto kumukungubagira nga bwe kyakolebwanga ku bajjajjaabe. Yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemu. Bwe yakisa omukono, tewali yamusaalirwa. Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, wabula nga si mu masiro ga bassekabaka. Ahaaziya asingayo obuto mu batabani ba Yehoraamu, abatuuze b'omu Yerusaalemu gwe baafuula omusika wa kitaawe, kubanga ekibinja ky'abasajja abajja n'Abawarabu mu lusiisira, kyali kisse abaana abakulu bonna. Bw'atyo Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu kabaka wa Buyudaaya n'afuga. Ahaaziya yali wa myaka amakumi ana mu ebiri, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Ataliya, muwala wa Ahabu, era muzzukulu wa Omuri. Era ne Ahaaziya n'agoberera empisa z'ab'ennyumba ya Ahabu, kubanga nnyina ye yamuwanga amagezi okukola ebibi. N'akolanga ebibi n'anyiiza Mukama, ng'ab'ennyumba ya Ahabu bwe baakolanga, kubanga kitaawe ng'amaze okufa, abo be baamuwanga amagezi ag'okumuzikiriza. Era ng'agoberera amagezi ge baamuwa, yeetaba wamu ne Yoraamu mutabani wa Ahabu kabaka wa Yisirayeli mu lutalo, okulwanyisa Hazayeeli, kabaka wa Siriya, e Ramoti Gileyaadi. Abassiriya ne bafumita Yoraamu. Awo Yoraamu n'akomawo e Yezireeli, amale okussuuka ebiwundu bye baamufumitira e Raama, ng'alwanyisa Hazayeeli, kabaka wa Siriya. Awo Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu kabaka wa Buyudaaya n'agendayo okumulaba obulwadde. Wabula Mukama yategeka nti okuzikirira kwa Ahaaziya kujja kumuviira mu kukyalira Yoraamu. Kubanga bwe yatuukayo, n'agenda ne Yoraamu okusisinkana Yeehu mutabani wa Nimusi, Mukama gwe yali alonze okuzikiriza ab'ennyumba ya Ahabu. Awo olwatuuka, Yeehu bwe yali ng'atuukiriza ekibonerezo Katonda kye yasalira ab'ennyumba ya Ahabu, n'asanga abakungu ba Buyudaaya, n'abaana ba baganda ba Ahaaziya, abaali bawerekedde Ahaaziya ku bugenyi. Yeehu n'abatta. N'alagira banoonye Ahaaziya, ne bamukwatira gye yali yeekwese mu Samariya, ne bamuleeta eri Yeehu, ne bamutta, ne bamuziika. Kubanga baagamba nti: “Ye muzzukulu wa Yehosafaati, eyafuba ennyo okuweereza Mukama. Ennyumba ya Ahaaziya n'etesigalamu muntu wa maanyi okufuga obwakabaka.” Awo Ataliya nnyina Ahaaziya, bwe yalaba nga mutabani we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza bonna ab'olulyo olulangira aba Buyudaaya. Ahaaziya yalina mwannyina ayitibwa Yehosebaati. Mwannyina oyo yali afumbiddwa Yehoyaada kabona. Yehosebaati n'awonyaawo mu bubba Yowaasi, omu ku batabani ba Ahaaziya, ng'amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n'amukweka n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu. Bw'atyo n'amuwonya okuttibwa Ataliya. Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu Ssinzizo, okumala emyaka mukaaga, nga Ataliya ye afuga eggwanga. Awo mu mwaka ogw'omusanvu, Yehoyaada ne yeevaamu, n'alagaana n'abaduumizi mu magye, abaduumira abaserikale ekikumi kikumi. N'alagaana ne Azariya, mutabani wa Yerohaamu, ne Yisimayeli, mutabani wa Yehohanani, ne Azariya, mutabani wa Obedi ne Maaseya, mutabani wa Adaya, ne Elisafati, mutabani wa Zikuri. Ne bayitaayita mu bibuga byonna eby'e Buyudaaya, ne baggyayo Abaleevi n'abakulu mu Bika eby'Abayisirayeli, ne bajja nabo e Yerusaalemu. Bonna ne bakuŋŋaanira mu Ssinzizo ne bakola endagaano n'omulangira ow'okulya obwakabaka. Yehoyaada n'abagamba nti: “Omulangira wuuno. Ye aba afuuka kabaka, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi. Kino kye munaakola: mu mmwe bakabona n'Abaleevi bwe banajja ku mpalo zaabwe ku Sabbaato, ekimu ekyokusatu bakuume emiryango gy'Essinzizo, n'ekimu ekyokusatu bakuume olubiri, n'ekimu ekyokusatu babeere ku mulyango oguyitibwa ogw'omusingi. N'abantu bonna babeere mu mpya z'Essinzizo. Waleme kubaawo muntu n'omu ayingira mu Ssinzizo, okuggyako bakabona n'Abaleevi abali ku gw'okuweereza. Abo bayinza okuyingira, kubanga batukuziddwa. Naye abantu abalala bonna bakwate ekiragiro kya Mukama, basigale ebweru. Abaleevi banaayimirira nga beebunguludde kabaka, buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye. Buli anaayingira mu Ssinzizo wa kuttibwa. Munaabeera wamu ne kabaka ng'ayingira era ng'afuluma.” Abaleevi n'Abayudaaya bonna ne bakola nga Yehoyaada kabona bwe yabalagira. Buli muduumizi n'atwala basajja be abaali bayingira okukola, wamu n'abo abaali bannyuka ku Sabbaato, kubanga Yehoyaada kabona teyasiibula bitongole by'abo abamazeeko empalo zaabwe ku Sabbaato. Awo Yehoyaada kabona n'awa abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, amafumu n'engabo ennene n'entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyali mu Ssinzizo. N'assaawo abantu bonna okukuuma kabaka, buli omu ng'akutte ekyokulwanyisa kye mu ngalo, okuva ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, okutuuka ku ludda lwalyo olwa kkono, okwetooloola alutaari n'Essinzizo. Awo n'afulumya omulangira, n'amutikkira engule ku mutwe, n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu amateeka agafuga obwakabaka. Bw'atyo n'afuulibwa kabaka. Yehoyaada kabona ne batabani be ne basiiga Yowaasi omuzigo, ne bagamba nti: “Kabaka, wangaala!” Awo Ataliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga beetawula era nga batendereza kabaka, n'ayingira mu Ssinzizo. Bwe yatunulayo bw'ati, n'alaba kabaka gwe baali baakateekako, ng'ayimiridde okumpi n'omulyango awali empagi awayimirirwa bakabaka, ng'abakulu mu magye n'abafuuyi b'amakondeere bamuli kumpi. Bannansi bonna baali basanyuka era nga bafuuwa amakondeere. N'abayimbi nabo baali bakuba ebivuga byabwe, ne bakulembera ennyimba okutendereza. Ataliya n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Mundiddemu olukwe, mundiddemu olukwe!” Awo Yehoyaada kabona n'ayita abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, n'abagamba nti: “Temumuttira mu Ssinzizo. Mumufulumye nga mumuyisa mu nnyiriri. Buli anaamugoberera okumutaasa mumutte.” Ne bamukwata, ne bamutwala mu lubiri, ne bamuttira eyo, ku Mulyango gw'Embalaasi. Awo Yehoyaada n'alagaanya nga yeegasse wamu ne kabaka era n'abantu bonna, nti banaabeeranga bantu ba Mukama. Abantu bonna ne bagenda awali essabo lya Baali, ne balimenyerawo ddala. N'alutaari ze n'ebifaananyi bye ne babimenyaamenya. Ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso ga zaalutaari. Yehoyaada omulimu ogukolebwa mu Ssinzizo n'agukwasa bakabona n'Abaleevi, Dawudi be yateekawo mu Ssinzizo okuwangayo eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa, ekyo bakikolenga nga basanyuka, era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira. Yehoyaada era n'ateekawo abaggazi ku miryango gy'Essinzizo, liremenga kuyingirwamu atali mulongoofu. Awo n'ayita abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, n'abakungu, n'abakulembeze b'abantu era ne bannansi bonna, ne baggya kabaka mu Ssinzizo, ne bamutwala mu lubiri, nga bamuyisa mu mulyango ogw'engulu. Ne bamutuuza ku ntebe ey'obwakabaka. Bannansi bonna ne basanyuka, n'ekibuga ne kitereera, nga Ataliya amaze okuttibwa. Yowaasi yali wa myaka musanvu we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Zibiya ow'e Beruseba. Yowaasi n'akola ebisiimibwa Mukama, ebbanga lyonna Yehoyaada kabona lye yamala nga mulamu. Yehoyaada n'amuwasiza abakazi babiri, ne bamuzaalira abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Ebyo bwe byaggwa, Yowaasi n'asalawo okuddaabiriza Essinzizo. N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi n'abagamba nti: “Mugende mu bibuga bya Buyudaaya, musolooze ku Bayisirayeli bonna ensimbi ez'okuddaabirizanga buli mwaka Essinzizo lya Katonda wammwe. Era ekyo mukikole mangu.” Kyokka Abaleevi ne balwawo okukikola. Awo kabaka n'ayita Yehoyaada omukulu waabwe, n'amugamba nti: “Lwaki tewasalira Baleevi kuleetanga musolo okuva mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, Musa omuweereza wa Katonda gwe yalagira ekibiina ky'Abayisirayeli okuguwanga, olw'okulabiriranga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama?” Kubanga abawagizi ba Ataliya, omukazi oyo omubi, baali boonoonyeyonoonye Essinzizo, n'ebintu byonna ebyawongerwangamu, nga babiwadde Babbaali. Awo kabaka n'alagira Abaleevi ne bakola essanduuko, ne bagiteeka wabweru ku mulyango gw'Essinzizo. Ne balangirira mu Buyudaaya bwonna ne mu Yerusaalemu, abantu bonna okuleeta eri Mukama omusolo, Musa omuweereza wa Katonda gwe yagerekera Abayisirayeli nga bali mu ddungu. Abakungu bonna n'abantu bonna ne basanyuka, ne baleetanga ensimbi, ne baziteeka mu ssanduuko, okutuusa bonna lwe baamalayo omusolo gwabwe. Awo Abaleevi buli lwe baaleetanga essanduuko ewa kabaka okukebera ekirimu, ne basanga ng'erimu ensimbi nnyingi, omuwandiisi wa kabaka, n'omuweereza wa ssaabakabona bajjanga ne baziggyamu, essanduuko ne bagitwala, ne bagizza mu kifo kyayo. Baakolanga bwe batyo buli lunaku. Bwe batyo ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi. Kabaka ne Yehoyaada ensimbi baazikwasanga abo abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo. Bo ne balagaana n'abasazi b'amayinja, n'ababazzi, n'abaweesa ebyuma n'ekikomo, okuddaabiriza Essinzizo. Abakozi ne bakola n'amaanyi, ne baddaabiriza Essinzizo, ne balizzaayo mu mbeera yaalyo entuufu, ne balinyweza. Bwe baamaliriza omulimu, ensimbi ezaasigalawo ne bazireetera kabaka ne Yehoyaada. Bo ne bazigulamu ebintu eby'omu Ssinzizo, ebikozesebwa nga basinza era nga bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa. Ne bagulamu n'ensaniya ezinyookerezebwako obubaane, era n'ebintu ebirala ebya zaabu ne ffeeza. Ebbanga lyonna Yehoyaada lye yamala nga mulamu, tebaayosanga kuwaayo mu Ssinzizo biweebwayo ebyokebwa. Awo Yehoyaada n'akaddiwa, n'afa ng'awezezza emyaka kikumi mu asatu gy'awangadde. Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, mu masiro ga bassekabaka, kubanga yali akoledde Katonda n'Essinzizo lye ebirungi mu Yisirayeli. Yehoyaada bwe yamala okufa, abakungu mu Buyudaaya ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'awuliriza bye bamugamba. Ne balekayo okusinzizanga mu Ssinzizo lya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne basinzanga lubaale Asera n'ebifaananyi. Olw'omusango gwabwe ogwo, Katonda n'asunguwalira Buyudaaya ne Yerusaalemu. Mukama n'abaweereza abalanzi okubakomyawo gy'ali. Ne babalabula, naye bo ne batafaayo Awo Mwoyo wa Katonda n'ajja ku Zekariya, mutabani wa Yehoyaada kabona. Zekariya n'ayimirira abantu we bayinza okumulabira n'abagamba nti: “Katonda agamba nti: ‘Lwaki mumenya ebiragiro bya Mukama, ne mwereetera emitawaana?’ Mukama abavuddeko, kubanga nammwe mumuvuddeko.” Naye bo ne bamwekobera era nga bakolera ku kiragiro kya kabaka, ne bamukubira amayinja mu luggya lw'Essinzizo. Bw'atyo Kabaka Yowaasi ne yeerabira eby'ekisa, Yehoyaada kitaawe wa Zekariya bye yamukolera, n'atta mutabani we. Zekariya bwe yali ng'anaatera okufa, n'agamba nti: “Mukama akitunuulire, awoolere eggwanga.” Ku nkomerero y'omwaka, ab'eggye ly'Abassiriya ne balumba Yowaasi. Ne bajja mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, ne batta abakulembeze bonna ab'abantu, okubamalirawo ddala. Ebintu byonna bye baanyaga ne babiweereza ewa kabaka w'e Damasiko. Eggye ly'Abassiriya lyali ttono. Kyokka Mukama n'aliwa okuwangula eggye lya Buyudaaya eddene ennyo nnyini, kubanga abantu b'omu Buyudaaya baali bamuvuddeko ye Katonda wa bajjajjaabwe. Bw'atyo Yowaasi bwe yabonerezebwa. Abassiriya bwe baamuvaako nga balese afumitiddwa ebiwundu eby'amaanyi, abaweereza be bennyini ne bamukolera olukwe, ne bamutemulira mu kitanda kye. Kino baakikola nga bawoolera eggwanga, kubanga Yowaasi yali asse mutabani wa Yehoyaada kabona. Bw'atyo Yowaasi n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, wabula nga si mu masiro ga bassekabaka. Abaakola olukwe okumutta, baali Zabadi, mutabani w'omukazi Omwammoni ayitibwa Simayaati, ne Yehozabaadi, mutabani w'omukazi Omumowaabu ayitibwa Simuriti. Ebifa ku batabani ba Yowaasi, n'ebizibu abalanzi bye baalanga ku ye, n'okuzimba obuggya Essinzizo, byawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyola ebya Bassekabaka. Mutabani we Amaziya ye yamusikira. Amaziya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda. Nnyina yali Yehoyaddini ow'e Yerusaalemu. Amaziya n'akola ebyo ebisiimibwa Mukama, wabula nga tabitaddeeko nnyo mutima. Awo olwamala okwenyweza ku bwakabaka, n'atta abaweereza be abatta kitaawe. Kyokka n'atatta baana baabwe, wabula n'agoberera ekyo ekyawandiikibwa mu kitabo kya Musa, nga Mukama bwe yalagira nti: “Abazadde tebattibwenga olw'emisango gya baana baabwe, n'abaana tebattibwenga olw'emisango bazadde baabwe gye bazza. Omuntu anattibwanga lwa musango ye yennyini gwe yazza.” Amaziya n'akuŋŋaanya abasajja ab'omu Buyudaaya, n'ategeka ab'omu kika kya Yuda n'ab'omu Benyamiini mu bibinja by'abaserikale, ng'asinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe, nga bakulemberwa abaduumizi b'olukumi lukumi, n'ab'ekikumi kikumi. N'abala abo abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, n'asanga nga bawera abasajja emitwalo amakumi asatu, abalondemu abayinza okugenda mu lutalo, era abamanyirivu mu kulwanyisa amafumu n'engabo. Era n'apangisa abasajja ab'amaanyi era abazira emitwalo kkumi, ng'abaggya mu Yisirayeli, ku muwendo gwa talanta kikumi eza ffeeza. Kyokka omuntu wa Katonda n'ajja, n'amugamba nti: “Ayi Kabaka, teweekolera n'ogenda n'eggye ly'Abayisirayeli, kubanga Mukama tali wamu nabo, era tali wamu na Beefurayimu bonna. Naye bw'onooyagala okugenda, kikole olage amaanyi n'obuzira mu lutalo. Katonda ajja kukumegga mu maaso g'abalabe. Kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba omuntu n'awangula, era alina obuyinza okumuleka ne bamuwangula.” Amaziya n'agamba omuntu wa Katonda nti: “Naye tunaakola tutya talanta ekikumi ze mmaze okusasula eggye lya Yisirayeli?” Omuntu wa Katonda n'addamu nti: “Mukama ayinza okukuwa ekisinga ennyo ku ekyo.” Awo Amaziya n'ayawulamu ab'eggye eryali lizze gy'ali nga livudde mu Efurayimu, n'abasiibula okuddayo ewaabwe. Ne basunguwalira nnyo ab'omu Buyudaaya, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi. Awo Amaziya n'aguma omwoyo, n'akulembera abantu be, n'agenda mu kiwonvu eky'Omunnyo, n'atta abaserikale b'e Seyiri omutwalo gumu. Abayudaaya ne bawamba n'abalala omutwalo gumu, ne babatwala waggulu ku ntikko y'olusozi, ne babasukkiza wansi, bonna ne babetenteka. Naye abasajja ab'omu ggye, Amaziya be yazzaayo n'abagaana okugenda naye mu lutalo, ne balumba ebibuga bya Buyudaaya, okuva e Samariya okutuuka e Beti Horoni, ne battamu abantu enkumi ssatu, ne batwala omunyago mungi. Amaziya bwe yakomawo ng'amaze okutta Abeedomu, n'aleeta balubaale b'abantu abo, ab'e Seyiri, n'abateekawo okuba balubaale be, n'abavuunamira, era n'abootereza obubaane. Mukama kyeyava asunguwalira Amaziya, n'amutumira omulanzi. Omulanzi n'amugamba nti: “Lwaki osinzizza balubaale b'abantu, abataasobola kutaasa bantu baabwe kubaggya mu mikono gyo?” Kyokka bwe yali ng'akyayogera, kabaka n'amugamba nti: “Twali tukulonze okuwanga kabaka amagezi? Oba tonoonya kuttibwa, sirika.” Omulanzi n'asirika, wabula ng'amaze kumugamba nti: “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga okoze ekyo, era n'otowuliriza magezi ge nkuwadde.” Awo Amaziya kabaka wa Buyudaaya bwe yamala okuteesa n'abo abamuwa amagezi, n'atumira Yowaasi mutabani wa Yehoyahaazi, era muzzukulu wa Yehu kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu twolekagane maaso na maaso.” Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'atumira Amaziya kabaka wa Buyudaaya ng'agamba nti: “Omwennyango ogwali ku lusozi Lebanooni gwatumira omuvule era ogwali eyo, nga gugamba nti: ‘Mutabani wange muwe muwala wo amuwase.’ Ensolo ey'omu ttale ey'oku Lebanooni bwe yali eyitawo, n'erinnyirira omwennyango. Kaakano ogamba nti: ‘Laba, mpangudde Abeedomu!’ Ekyo ne kikuleetera okwewaga n'okwegulumiza. Kale beera ewuwo. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Buyudaaya yonna?” Kyokka Amaziya n'agaana okuwuliriza, kubanga Katonda yayagala okubawaayo bawangulwe abalabe baabwe, kubanga baasinza balubaale ba Edomu. Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'alumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Buyudaaya, ne boolekagana maaso na maaso e Betisemesi ekya Buyudaaya. Yisirayeli n'awangula eggye lya Buyudaaya, buli mutabaazi n'adduka n'addayo ewaabwe. Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba Amaziya kabaka wa Buyudaaya, mutabani wa Yowaasi era muzzukulu wa Ahaaziya. Yamuwambira Betisemesi, n'amuleeta e Yerusaalemu. Yowaasi n'amenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu, okuva ku Mulyango gwa Efurayimu, okutuuka ku Mulyango ogw'oku Nsonda, bwe buwanvu bwa mita ng'ebikumi bibiri. N'anyaga zaabu ne ffeeza yenna era n'ebintu byonna bye yasanga mu Ssinzizo, nga bikuumibwa Obededomu. N'anyaga n'ebyobugagga eby'omu lubiri lwa kabaka. N'atwala n'abasibe. N'addayo e Samariya. Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Buyudaaya, n'awangaala emyaka kkumi n'etaano nga Yehoyahaazi kabaka wa Yisirayeli amaze okukisa omukono. N'ebirala byonna Amaziya bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Bassekabaka ba Buyudaaya n'aba Yisirayeli. Amaziya okuviira ddala lwe yakyuka n'ava ku Mukama, ne bakola olukwe mu Yerusaalemu okumutta. N'addukira mu kibuga ky'e Lakisi. Naye ne baweereza ab'okumulondoola mu Lakisi, ne bamuttirayo. Enjole ye ne bagireetera ku mbalaasi. Ne bamuziika we baaziika bajjajjaabe mu kibuga kya Buyudaaya. Awo abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne balonda Wuzziya ow'emyaka ekkumi n'omukaaga okusikira Amaziya kitaawe. Wuzziya ye yazimba Elati obuggya n'akiddiza Buyudaaya nga Amaziya amaze okuddayo eri bajjajjaabe. Wuzziya yatandika okufuga nga wa myaka kkumi na mukaaga. N'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemu. Wuzziya n'akola ebyo Mukama by'asiima, ng'ebyo Amaziya kitaawe bye yakola. Ne yeewaayo okuweereza Katonda, mu biseera bya Zekariya eyamuyigiriza okussaamu Katonda ekitiibwa. Era ebbanga lyonna lye yamala ng'aweereza Mukama, Katonda n'amuwa omukisa. Yagenda mu lutalo n'alwanyisa Abafilistiya, n'amenyera ddala ekigo ky'ekibuga Gaati ne Yabune ne Asudoodi, n'azimba ebibuga mu bitundu by'e Asudoodi n'awalala mu nsi y'Abafilistiya. Katonda n'amuyamba okuwangula Abafilistiya, n'Abawarabu abaabeeranga e Gurubaali, n'Abamewuni. Abammoni ne bawanga Wuzziya omusolo, n'amanyika nnyo n'okutuusa ku nsalo ne Misiri, kubanga yali wa maanyi nnyo. Wuzziya era n'azimba eminaala mu Yerusaalemu ku Mulyango ogw'omu Nsonda, ne ku Mulyango ogw'omu Kiwonvu, n'ekigo we kiwetera, n'aginyweza. Era n'azimba eminaala mu ddungu, n'asima n'enzizi nnyingi, kubanga yalina amagana mangi mu biwonvu ne mu nsenyi. Era yalina abalimi n'abasalira emizabbibu mu nsonzi ne mu nnimiro eŋŋimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima. Wuzziya era yalina eggye ly'abaserikale abeetegese okulwana olutalo mu bibinja ebirimu abaserikale ababaliddwa ne bawandiikibwa Yeyeli omuwandiisi omukulu, ne Maaseya omukungu, nga balabirirwa Hananiya, omu ku baami ba kabaka abaduumizi. Omuwendo gwonna ogw'abakulu b'ennyumba, abasajja ab'amaanyi era abazira gwali enkumi bbiri mu lukaaga. Bano baakuliranga eggye ly'abaserikale emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu bitaano, abaasobolanga okulwana n'amaanyi amangi, okuyamba kabaka okulwanyisa abalabe. Wuzziya yategekera eggye lyonna engabo, n'amafumu, n'enkuufiira n'ebizibaawo eby'ekyuma, n'emitego gy'obusaale, n'envuumuulo ezikasuka amayinja. N'akola mu Yerusaalemu ebyuma ebyayiiyizibwa abasajja ab'amagezi, ebiteekebwa ku minaala ne ku nsonda z'ekigo okulasa obusaale, n'okukanyuga amayinja amanene. Ettutumu lye ne lituuka wala, n'aba wa maanyi olw'obuyambi obungi ennyo bwe yafuna. Kyokka Kabaka Wuzziya bwe yafuna amaanyi, ne yeekuza, ne kimuviiramu okukola ebikyamu n'anyiiza Mukama Katonda we. Kubanga yayingira mu Ssinzizo lya Mukama okwotereza obubaane ku alutaari eyoterezebwako obubaane. Azariya kabona ng'ali wamu ne bakabona ba Mukama kinaana, abasajja abazira, n'ayingira ng'amuvaako emabega. Ne baziyiza Kabaka Wuzziya, nga bamugamba nti: “Wuzziya, si mulimu gwo okwotereza Mukama obubaane, wabula gwa bakabona ab'olulyo lwa Arooni, abaayawulibwa okubwotereza. Vva mu kifo ekitukuvu, kubanga osobezza. Era Mukama Katonda tajja kukuwa kitiibwa.” Awo Wuzziya n'asunguwala nnyo. Yali ayimiridde awo mu Ssinzizo okuliraana n'alutaari eyoterezebwako obubaane, ng'akutte ekyoterezo kyabwo. Bwe yasunguwalira bakabona, ebigenge ne bimukwata mu kyenyi nga bakabona balaba. Awo Azariya Ssaabakabona ne bakabona bonna, bwe bamutunuulira ne beetegereza ebigenge ebimukutte mu kyenyi, ne bamugoba ave mangu mu Ssinzizo. Era naye yennyini n'ayanguwa okufuluma kubanga Mukama yali amubonerezza. Kabaka Wuzziya n'aba mugenge obulamu bwe bwonna. Era olw'okuba omugenge, n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka, era nga takkirizibwa kuyingira mu Ssinzizo. Mutabani we Yonatamu n'akulira olubiri, nga ye afuga abantu b'ensi eyo. Ebirala Wuzziya bye yakola okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi. Awo Wuzziya ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa kumpi ne we baaziikibwa sso si mu masiro ga bassekabaka, kubanga baagamba nti mugenge. Yotamu yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri mu etaano. N'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Yerusa, muwala wa Zadoki. Yotamu n'akolanga ebirungi ebisanyusa Mukama, nga Wuzziya kitaawe bye yakolanga. Era ye teyayingira na maanyi mu Ssinzizo. Naye bo abantu ne beeyongeranga okukola ebibi. N'azimba Omulyango ogw'Engulu ogw'Essinzizo, era n'akola omulimu munene ku kigo kya Yerusaalemu mu kitundu ekiyitibwa Ofeli. Era n'azimba ebibuga mu nsozi za Buyudaaya, era n'azimba ebigo n'eminaala mu bibira. N'alwanyisa Kabaka w'Abammoni n'amuwangula, Abammoni ne bamuwa mu mwaka ogwo omusolo gwa talanta kikumi eza ffeeza, ensawo omutwalo gumu ez'eŋŋaano n'ensawo omutwalo gumu eza bbaale. Era omusolo ogwenkana awo, gwe baamusasula mu mwaka ogwokubiri, ne mu gwokusatu. Awo Yotamu n'afuuka wa maanyi, kubanga yagondera Mukama Katonda we. Ebirala Yotamu bye yakola, n'entalo zonna ze yalwana, n'enkola ye, byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya. Yotamu yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri mu etaano, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. N'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Ahazi mutabani we n'amusikira. Ahazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. N'atakola birungi ebisanyusa Mukama nga jjajjaawe Dawudi bye yakola. N'agoberera empisa za bassekabaka ba Yisirayeli, era n'aweesa ebifaananyi bya Babbaali. Era n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu. N'ayokyanga ne batabani be mu muliro ng'ebitambiro, nga bwe yali empisa eyenyinyalwa ey'ab'amawanga, Mukama be yagoba mu nsi eyo, ng'Abayisirayeli batuuka. Era yatambiranga n'anyookeza n'obubaane mu bifo ebigulumivu ne mu nsozi na buli wansi wa muti ogw'amakoola. Olw'ebibi ebyo, Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mikono gya Kabaka w'e Siriya, n'amuwangula. Ne batwala abantu be bangi nnyo nga basibe, ne babaleeta e Damasiko. Era yaweebwayo mu mikono gya Kabaka wa Yisirayeli eyamuwangula ng'asse n'abantu be bangi ddala. Kubanga Peka mutabani wa Remaaliya, yatta mu Buyudaaya abantu emitwalo kkumi n'ebiri mu lunaku lumu, bonna abasajja abazira kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Zikuri omusajja ow'amaanyi Omwefurayimu n'atta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azurikaamu alabirira olubiri lwa kabaka, ne Elukaana eyali addirira kabaka. Abayisirayeli ne batwala baganda baabwe ab'omu Buyudaaya, abakazi n'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, emitwalo amakumi abiri nga basibe. Era ne babaggyako n'ebintu bingi. Ne batwala omunyago e Samariya. Naye omulanzi wa Mukama, erinnya lye Odedi yali Samariya, n'asituka okusisinkana eggye nga likomawo e Samariya. N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira ab'omu Buyudaaya, kyavudde abawaayo mu mikono gyammwe. Naye mubassizza obusungu obutumbidde okutuuka ku ggulu. Era kaakano mwagala okufuga abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu babe abaddu n'abazaana bammwe. Naye mmwe temuliiko bibi bye mwakola ne munyiiza Mukama Katonda wammwe? Kale muwulire kye ŋŋamba, muzzeeyo abasibe be muwambye ku baganda bammwe, kubanga nammwe Mukama abasunguwalidde n'obukambwe.” Awo abamu ku bakulembeze mu Beefurayimu: Azariya mutabani wa Yohanaani, ne Berekiya mutabani wa Mesillemoti, ne Yehizukiya, mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Hadulayi, nabo ne bawakanya abo abaava mu lutalo. Ne babagamba nti: “Temuleeta wano abasibe. Twakola dda ebibi ne tunyiiza Mukama mu Yisirayeli, kubanga omusango gwaffe munene. Ate mwagala mwongere okugezza ebibi byaffe n'omusango gwaffe?” Awo abaserikale ne baleka abasibe n'omunyago mu maaso g'abakulembeze n'ekibiina kyonna. Abasajja abamaze okwogerwako amannya gaabwe, ne basituka ne batwala abo abasibe abaali obwereere ne babawa engoye, nga batoola ku munyago, ne babambaza era ne babawa engatto. Ne babafunira ebyokulya n'ebyokunywa. Ne babasiiga omuzigo. Abatalina maanyi ne babatwalira ku ndogoyi, ne babatuusa e Yeriko ekibuga ky'enkindu, mu baganda baabwe. Awo Abayisirayeli ne baddayo e Samariya. Mu kiseera ekyo, Kabaka Ahazi n'atumira kabaka wa Assiriya okumuyamba, kubanga Abeedomu baali bazzeemu okulwanyisa ab'omu Buyudaaya ne babawangula, ne batwala abasibe. Abafilistiya nabo baali balumbye ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'obukiikaddyo obwa Buyudaaya. Ne bawamba ebibuga Betisemesi ne Ayiyalooni ne Gederoti, n'ebibuga Soko ne Timuna ne Gimuzo n'ebyalo byabyo, ne babeeranga omwo, kubanga Mukama yatoowaza Buyudaaya olwa Ahazi Kabaka wa Yisirayeli. Ahazi yali akoze eby'effujjo mu Buyudaaya n'anyiiza nnyo Mukama, n'ataba mwesigwa eri Mukama. Awo Tilugati Piluneseri, kabaka wa Assiriya bwe yajja, mu kifo ky'okumuyamba n'amuwakanya, n'amwongera kweraliikirira. Kubanga Ahazi yabaako by'aggya mu Ssinzizo, ne mu lubiri lwe, ne mu nnyumba za bakungu, n'abiwa kabaka wa Assiriya, era ne kitamuyamba. Kabaka oyo Ahazi, ne mu kiseera mwe yabonaabonera, yeeyongera bweyongezi okunyiiza Mukama. N'awaayo ebitambiro eri balubaale b'e Damasiko, abaamuwangula. N'agamba nti: “Balubaale ba bakabaka ba Siriya baabayamba, nange ka mbawe ebitambiro bannyambe.” Wabula ne bamuviiramu okuzikirira, ye ne Yisirayeli yonna. Awo Ahazi n'akuŋŋaanya ebintu ebikozesebwa mu Ssinzizo, n'abyasaayasa byonna. N'aggalawo enzigi z'Essinzizo ne yeekolera alutaari mu buli kafo mu Yerusaalemu. Ne mu buli kibuga kya Buyudaaya n'akolamu ebifo ebigulumivu okwoterezanga balubaale obubaane, n'asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe. Ebirala byonna bye yakola, n'empisa ze zonna okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Buyudaaya n'aba Yisirayeli. Ahazi ne yeegatta ku bajjajjaabe. Ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemu, kyokka tebaamuyingiza mu masiro ga bassekabaka ba Yisirayeli. Heezeekiya mutabani we n'amusikira. Heezeekiya yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri mu etaano. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Abiya, muwala wa Zekariya. N'akolanga ebirungi ebisanyusa Mukama ng'ebyo byonna Dawudi jjajjaawe bye yakolanga. Mu mwezi omubereberye ogw'omwaka ogusooka mu bufuzi bwe, n'aggulawo enzigi z'Essinzizo era n'aziddaabiriza. N'ayingiza bakabona n'Abaleevi mu luggya lw'Essinzizo, ku ludda olw'ebuvanjuba. N'abagamba nti: “Mmwe Abaleevi, muwulire kye ŋŋamba. Kaakano mwetukuze, mutukuze n'Essinzizo lya Mukama Katonda wa bajjajjammwe. Ekifo Ekitukuvu mukiggyeemu byonna ebikyonoona. Kubanga bajjajjaffe baayonoona ne bataba beesigwa eri Mukama, Katonda waffe, ne bamuvaako, ne bakuba amabega ekifo mw'abeera. Baggalawo enzigi eziyingira mu Ssinzizo, ne bazikiza ettaala, ne batayotereza bubaane, wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu Kifo Ekitukuvu eri Katonda wa Yisirayeli. Mukama kyeyava asunguwalira ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu n'abatuusa ku buzibu obuleetera buli muntu okwewuunya n'okwesooza, nga bwe mukyerabirako n'amaaso gammwe. Kubanga bakitaffe battibwa mu lutalo, bakazi baffe, batabani baffe ne bawala baffe ne batwalibwa nga basibe. “Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama Katonda wa Yisirayeli, okukyusa obusungu bwe obukambwe butuveeko. Batabani, temugayaala nno, kubanga Mukama abalonze mmwe, okuyimirira mu maaso ge okumuweereza, mube abaweereza be, era mwoterezenga obubaane.” Awo Abaleevi bano ne basituka: Mahati mutabani wa Amasaayi, ne Yoweeli mutabani wa Azariya ab'omu lulyo lw'Abakohati. Ab'omu lulyo lwa Merari: Kiisi mutabani wa Abudi ne Azariya mutabani wa Yehaleleli. Ab'omu lulyo lw'Abagerusooni: Yowa mutabani wa Zimma, ne Edeni mutabani wa Yowa. Ab'omu lulyo lwa Elizafani: Simuri ne Yoweeli. Ab'omu lulyo lwa Asafu: Zekariya ne Mattaniya. Ab'omu lulyo lwa Hemani: Yehuweeli ne Simeeyi. Ab'omu lulyo lwa Yedutuuni: Semaaya ne Wuzziyeeli. Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza, ne bayingira mu Ssinzizo okulitukuza nga kabaka bwe yabalagira, ng'agoberera ebigambo bya Mukama. Bakabona ne bayingira mu kisenge ekyomunda eky'Essinzizo okulongoosa. Ne baggyamu ebyo byonna bye baasanga mu Ssinzizo ebitali birongoofu, ne babireeta mu luggya lwalyo. Abaleevi ne babifulumya ebweru ne babisuula mu kagga Kidurooni. Baatandika okugitukuza ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'olubereberye. Ku lunaku olw'omunaana olw'omwezi ogwo, ne batuuka ku kisasi ky'Essinzizo. Ne bakolera ennaku endala munaana. Ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogwo, ne bamaliriza. Awo ne bagenda ewa Kabaka Heezeekiya ne bamugamba nti: “Tumaze okulongoosa Essinzizo lyonna n'alutaari y'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebikozesebwako byonna, n'emmeeza eteekebwako emigaati n'ebikozesebwako byonna. Ebikozesebwa byonna Kabaka Ahazi bye yasuula nga ye afuga, bwe yakola ebitasaana, tubitegese ne tubitukuza, era kaakano biri mu maaso ga alutaari ya Mukama.” Awo Heezeekiya kabaka n'agolokoka mu makya, n'akuŋŋaanya abakulembeze b'ekibuga, n'ayambuka mu Ssinzizo. Ne baleeta ente ennene musanvu, n'endiga ennume musanvu, n'abaana b'endiga, n'embuzi ennume musanvu nga kye kiweebwayo olw'ebibi ku lw'obwakabaka ne ku lw'Essinzizo ne ku lwa Buyudaaya. N'alagira bakabona bazzukulu ba Arooni okubiweerayo ku alutaari ya Mukama. Awo ne batta ente ennume, bakabona ne batoola omusaayi gwazo ne bagumansira ku alutaari. Ne batta endiga ennume, ne bamansira omusaayi ku alutaari. Ne batta abaana b'endiga, ne bamansira omusaayi ku alutaari. Ne baleeta embuzi ennume mu maaso ga kabaka n'ekibiina, embuzi ezo nga kye kiweebwayo olw'ebibi. Ne baziteekako emikono. Bakabona ne bazitta, ne bayiwa omusaayi gwazo ku alutaari, nga kye kitambiro eky'okuggyawo ebibi by'abantu bonna Abayisirayeli, kubanga kabaka yalagira nti ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ebibi, biweebweyo ku lw'Abayisirayeli bonna. N'ateeka Abaleevi mu Ssinzizo, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, nga Kabaka Dawudi ne Gaadi omulabi wa kabaka, ne Natani omulanzi bwe baalagira. Ekyo Mukama ye yakiragira ng'ayita mu balanzi be. Abaleevi ne bayimirira nga balina ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga balina amakondeere. Awo Heezeekiya n'abalagira okuweerayo ku alutaari ekiweebwayo ekyokebwa. Ekiweebwayo bwe kyatandika okuweebwayo, ne batandika n'okuyimbira Mukama, n'okufuuwa amakondeere n'okukuba ebivuga bya Dawudi kabaka wa Yisirayeli. Bonna abaali bakuŋŋaanidde awo ne basinza. Abayimbi ne bayimba, n'abafuuyi b'amakondeere ne bagafuuwa. Byonna ebyo ne bibaawo bwe bityo, okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo. Ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyaggwaawo, kabaka n'abaaliwo bonna ne bavuunama ne basinza. Kabaka Heezeekiya n'abakulembeze ne balagira Abaleevi okuyimba ennyimba ezitendereza Mukama, ezaayiiyizibwa Dawudi ne Asafu omulanzi. Ne bayimba n'essanyu okutendereza, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza. Awo Heezeekiya n'agamba nti: “Kaakano nga bwe mwewonze eri Mukama, musembere muleete mu Ssinzizo ebitambiro n'ebiweebwayo olw'okwebaza.” Bonna abaali bakuŋŋaanye ne baleeta ebitambiro n'ebiweebwayo olw'okwebaza. Era bonna abaali baagala, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa. Abaali bakuŋŋaanye ne baleeta ente ennume nsanvu, endiga ennume kikumi, n'abaana b'endiga ebikumi bibiri, ebyo byonna nga bya kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Ebirala bye baaleeta okuwongera Mukama, zaali ente ennume lukaaga n'endiga enkumi ssatu. Naye bakabona baali batono, nga tebasobola kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna. Baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa ne bakabona abalala lwe baamala okwetukuza era okutuusa omulimu lwe gwaggwa. Kubanga Abaleevi bassaayo nnyo omwoyo okwetukuza okusinga bakabona. Ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo, ne kweyongerako n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'okutabagana, n'ebyokunywa ebyaweerwayo awamu n'ebiweebwayo ebyokebwa. Awo okusinza okw'omu Ssinzizo ne kuzzibwawo bwe kutyo. Awo Heezeekiya n'abantu bonna ne basanyuka, kubanga Katonda yabayamba ne bakola ebyo byonna amangu ddala. Awo Heezeekiya n'atumira ab'omu Yisirayeli bonna n'ab'omu Buyudaaya, era n'awandiikira ab'omu kitundu kya Efurayimu n'ekya Manasse, bajje mu Ssinzizo e Yerusaalemu, okukolera Mukama Katonda wa Yisirayeli Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Kabaka yali ateesezza n'abakungu be, n'abantu bonna abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako bagikolere mu mwezi ogwokubiri. Kubanga tebaasobola kugikolera mu nnaku ezo, ng'omuwendo gwa bakabona abeetukuzizza tegumala era nga n'abantu baali tebakuŋŋaanidde Yerusaalemu. Awo kabaka ne bonna abaali bakuŋŋaanye, ne basiima entegeka eyo. Ne balagira okulangirira mu Yisirayeli yonna, okuva e Beruseba okutuuka e Daani nti abantu bajje e Yerusaalemu bakolereyo Mukama Katonda wa Yisirayeli Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Kubanga bangi baali tebagikolangako nga bwe kiragirwa. Ababaka ne bagenda wonna mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, nga batutte amabaluwa ga kabaka n'abakungu be, ng'alagira nti: “Mmwe Abayisirayeli abasigaddewo nga muwonye okutwalibwa bakabaka ba Assiriya, mukyuke mudde eri Mukama Katonda wa Aburahamu, Yisaaka ne Yisirayeli, naye alyoke adde gye muli. Era muleme kuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abaanyiiza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, n'abawaayo okuzikirizibwa nga bwe mulaba. Kale mmwe temuguguba nga bajjajjammwe, naye mweweeyo eri Mukama, muyingire mu Ssinzizo lye, lye yatukuza emirembe gyonna, musinze Mukama Katonda wammwe, alyoke alekere awo okubasunguwalira ennyo. Kubanga bwe munaakyuka ne mudda eri Mukama, abo abaatwala baganda bammwe n'abaana bammwe, bajja kubakwatirwa ekisa, babaleke bakomewo mu nsi eno. Kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, era asaasira. Tajja kubakuba mabega nga mukomyewo gy'ali.” Awo ababaka ne bagenda mu buli kibuga, mu kitundu ekirimu ab'Ekika kya Efurayimu ne Manasse, ne batuuka ne mu kitundu kya Zebbulooni. Naye abantu ne babasekerera era ne babajerega. Wabula abamu mu Bika ebya Aseri ne Manasse ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bajja e Yerusaalemu. Era Katonda n'ayamba ab'omu Buyudaaya, ne baba n'omutima gumu, okuwulira ekiragiro kabaka n'abakungu be kye baabawa, nga bakolera ku kigambo kya Mukama. Awo abantu bangi nnyo ddala ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemu mu mwezi ogwokubiri okuba ku Mbaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Ne basituka ne baggyawo alutaari zonna ezaali mu Yerusaalemu. Ne alutaari zonna ezooterezebwako obubaane, ne baziggyawo, ne bazisuula mu Kagga Kidurooni. Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwokubiri, ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ekyo ne kikwasa bakabona n'Abaleevi ensonyi kubanga baali tebanneetukuza, ne beetukuza, ne baleeta mu Ssinzizo ebiweebwayo ebyokebwa. Ne bayimirira mu kifo kyabwe, nga bwe balagirwa mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. Abaleevi ne baweereza bakabona omusaayi gw'ebitambiro, bo ne bagumansira. Mu baali bakuŋŋaanye, mwalimu bangi abaali tebeetukuzizza. N'olwekyo Abaleevi ne baba n'omulimu okuttira buli muntu ateetukuzizza omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, gulyoke guweebweyo eri Mukama. Era mu bantu abangi bwe batyo, bangi mu baali bavudde mu Bika bya Efurayimu, ne Manasse, Yissakaari ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, naye ne balya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, sso nga si bwe kyalagirwa. Wabula Heezeekiya n'abasabira ng'agamba nti: “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu, ataddeyo omutima okusinza Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, wadde nga tatukuziddwa ng'okunaazibwa okw'omu Ssinzizo bwe kuteekwa okuba.” Mukama n'awulira Heezeekiya kye yamusaba, n'asonyiwa abantu, n'atabakolako kabi. Abayisirayeli abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu, ne bamala ennaku musanvu nga bakola n'essanyu lingi nnyo Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Abaleevi ne bakabona ne batendereza Mukama buli lunaku, nga bakuba ebivuga eby'amaanyi. Heezeekiya n'ayogera ebizzaamu amaanyi Abaleevi abaalaga bwe bamanyi obulungi okuweereza Mukama. Abantu ne bamala ennaku musanvu nga balya ebyali ku mbaga, nga bawaayo ebitambiro eby'okutabagana, era nga beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Oluvannyuma, bonna abaali bakuŋŋaanye ne bakkiriziganya okumala ennaku endala musanvu mu mbaga eyo. Bwe batyo ne bagimalamu ennaku endala musanvu nga basanyuka. Kubanga Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya, yali abawadde ente lukumi, n'endiga kasanvu ez'okutambira. N'abakungu ne bawa abakuŋŋaanye ente lukumi, n'endiga omutwalo gumu. Ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza. Kale abantu bonna ab'omu Buyudaaya, wamu ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna abaava mu Yisirayeli, n'abagwira abaali basenze mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ne basanyuka. Ekibuga Yerusaalemu ne kijjula essanyu. Kubanga waali tewabangawo kiri ng'ekyo, okuva mu biseera bya Solomooni, mutabani wa Dawudi Kabaka wa Yisirayeli. Awo bakabona n'Abaleevi, ne basituka ne basabira abantu omukisa. Katonda n'awulira eddoboozi lyabwe, n'asiima okusaba kwabwe mu kifo kye ekitukuvu gy'abeera mu ggulu. Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayeli bonna abaali bali awo ne bagenda mu bibuga bya Buyudaaya, ne bamenyaamenya empagi ez'amayinja n'ebifaananyi bya lubaale Asera, ne zaalutaari, ne baseeteeza n'ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu. Ne bakola bwe batyo mu bitundu byonna ebya Yuda ne Benyamiini ne Efurayimu ne Manasse, okutuusa lwe baabizikiririza ddala byonna. Awo Abayisirayeli bonna ne baddayo mu bibuga by'ewaabwe buli omu ku butaka bwe. Awo Heezeekiya n'azzaawo ebitongole bya bakabona n'Abaleevi, nga baweereza mu mpalo, buli bamu, bakabona n'Abaleevi ng'omulimu gwabwe bwe gwali, okuwaangayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana, n'okuweerezanga, okwebazanga n'okutenderezanga Mukama ku miryango gy'Essinzizo. Kabaka n'atoola ku bintu ebibye ku bubwe, n'awaayo omutemwa ogw'ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli nkya n'akawungeezi n'ebya buli Sabbaato, n'ebya buli mbaga ey'okuboneka kw'omwezi n'eby'embaga zonna eziragirwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama. Era n'alagira abantu ab'omu Yerusaalemu okuwangayo omugabo ogw'okuyimirizaawo bakabona n'Abaleevi, basobolenga okwewaayo okutuukiriza Amateeka ga Mukama. Ekiragiro ekyo bwe kyalangirirwa, Abayisirayeli ne baleeta mu bungi ebisooka okukungulwa eby'eŋŋaano n'omwenge, eby'omuzigo ogw'emizayiti, n'omubisi gw'enjuki, n'eby'ebirime byabwe byonna, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebintu byabwe byonna. Ne baleeta bingi nnyo. Abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya abaali babeera mu bibuga bya Buyudaaya ne baleeta ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omuwendo gw'ente n'endiga zaabwe n'ekimu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ne byawulirwa Mukama Katonda waabwe. Ne babituuma entuumu. Mu mwezi ogwokusatu mwe baatandikira okutuuma entuumu, ne bazimaliriza mu mwezi ogw'omusanvu. Awo Heezeekiya n'abakungu be bwe bajja ne balaba entuumu, ne beebaza Mukama n'abantu be Abayisirayeli. Awo Heezeekiya ne bakabona ne beebuuzaganya ebifa ku ntuumu. Azariya Ssaabakabona ow'omu nnyumba ya Zadooki n'amugamba nti: “Abantu okuva lwe baatandika okuleeta ebiweebwayo mu Ssinzizo, tulya emmere ne tukkuta ne tulemerwanawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, ne tusobola n'okusigazaawo emmere eno.” Awo Heezeekiya n'alagira bategeke ebisenge mu Ssinzizo, ne babitegeka. Ne bayingizaamu n'obwegendereza ebiweebwayo n'ebitundu eby'ekkumi, n'ebintu ebyawongebwa. Eyakulira ogw'okubirabirira yali Kononiya Omuleevi, Simeeyi muganda we nga ye amuddirira. Ate Yehiyeeli ne Azizaaya, ne Nahati, ne Asaheeli, ne Yerimooti ne Yozabadi, ne Eliyeeli, ne Yisumakiya, ne Mahati ne Benaaya be baali ku gw'okulabirira, nga bayamba ku Kononiya ne Simeeyi muganda we, nga balondeddwa Heezeekiya Kabaka ne Azariya omukungu akulira Essinzizo. Ne Koore mutabani wa Yimuna Omuleevi, omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba, ye yali alabirira ebyo abantu bye bawaayo eri Katonda nga beeyagalidde, nga ye agabanyaamu ebirabo bya Mukama era nga ye agaba n'ebitukuvu ennyo. Edeni ne Miniyamini ne Yeswa ne Semaaya, Amariya, ne Sekaniya, be basajja abeesigwa abaamuyambangako mu bibuga bya bakabona, okugabira baganda baabwe ebintu mu bitongole byabwe, abakulu n'abato. Okwo tekwali abo abaali bawandiikiddwa mu kitabo ekiraga ennyiriri z'obuzaale bwabwe nga bwe ziri, abasajja n'abaana ab'obulenzi bonna, okuva ku myaka esatu egy'obukulu n'okusingawo, abaagendanga mu Ssinzizo okuweereza mu mpalo z'ebitongole byabwe. Eyo bo gye baafunanga omugabo gwabwe ogwa buli lunaku. Bakabona baawandiikibwanga obuzaale bwabwe okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe nga bwe ziri. N'Abaleevi baawandiikibwanga okuva ku b'emyaka amakumi abiri egy'obukulu n'okusingawo okusinziira ku mirimu gye baakolanga mu bitongole byabwe. Bakabona baawandiikibwanga wamu ne bakazi baabwe n'abaana baabwe abato n'abakulu, ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ab'omu maka gaabwe bonna, kubanga baabanga beesigwa ku mulimu gwabwe ne beekuuma nga batukuvu okukola omulimu gwabwe ekiseera kyonna. Ebikwata ku bazzukulu ba Arooni, bakabona abaabeeranga mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe waaliwo abantu abamanyiddwa n'amannya gaabwe, abaaweebwa omulimu ogw'okuwanga omugabo buli musajja abalirwa mu bakabona na buli Muleevi eyawandiikibwa. Era bw'atyo Heezeekiya bwe yakola mu Buyudaaya yonna. N'akola ebirungi era ebituufu ebisiimibwa Mukama Katonda we era eby'obwesigwa. Yafuna omukisa, kubanga buli mulimu gwe yatandika ogw'okuweereza mu Ssinzizo, n'okukuuma Amateeka n'ebiragiro n'okusinza Mukama Katonda we, yagukola n'omutima gwe gwonna. Ebyo Heezeekiya bye yakola n'obwesigwa bwe byaggwa, Sennakeribu kabaka w'Assiriya n'ajja n'azinda Buyudaaya n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, ng'ateekateeka okubiwamba abyefuge. Awo Heezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng'amaliridde okulwanyisa Yerusaalemu, ne yeebuuza ku bakungu be ne ku basajja be ab'amaanyi, okuziba ensulo z'amazzi ezaali ebweru w'ekibuga, ne bamuwagira. Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba ensulo zonna ez'amazzi era n'akagga akayita mu kitundu ekyo, nga bagamba nti: “Lwaki bakabaka ba Assiriya basanga amazzi amangi nga bazze?” N'aguma omwoyo, n'azimba ekisenge kyonna ekyali kimenyese n'akisitula okwenkana n'eminaala. N'azimba n'ekisenge ekirala ebweru waakyo. N'anyweza mu Kibuga kya Dawudi ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda ekiyitibwa Millo. N'akola ebyokulwanyisa era n'engabo bingi ddala. Abantu n'abateekako abaduumizi b'amagye okubalabirira. Era n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu kifo ekigazi ku wankaaki w'ekibuga n'ayogera nabo ebigambo eby'okubagumya, n'abagamba nti: “Mube ba maanyi era bamalirivu, temutya era temuterebuka okulaba kabaka wa Assiriya, wadde okulaba eggye lyonna eriri naye, kubanga tulina ow'obuyinza okusinga abali naye. Ye ali wamu n'eggye ery'abantu, naye ffe tuli wamu ne Mukama Katonda waffe okutuyamba era n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo ebyo, ebya Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya. Ebyo bwe byaggwa, Sennakeribu kabaka wa Assiriya eyali azingizizza Lakisi n'amagye ge gonna, n'atuma abaweereza be e Yerusaalemu eri Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya, n'eri abantu b'omu Buyudaaya bonna abaali e Yerusaalemu, ng'agamba nti: “Sennakeribu kabaka wa Assiriya agamba bw'ati nti: ‘Mwesiga ki okulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemu?’ Heezeekiya tababuzaabuza okubawaayo mufe enjala n'ennyonta, bw'agamba nti Mukama Katonda wammwe ajja kubawonya Abassiriya? Heezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bya Mukama ebigulumivu ne alutaari ze, n'alagira abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari emu yokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane?’ Temumanyi nze ne bajjajjange kye twakola amawanga gonna ag'omu nsi endala? Balubaale b'amawanga g'omu nsi ezo baasobola okubaako kye bakola okuwonya ensi zaabwe okuziggya mu mikono gyange? Lubaale ki ku balubaale bonna ab'amawanga ago bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyasobola okuwonya abantu be okubaggya mu mikono gyange, Katonda wammwe alyoke asobole okubawonya mmwe, abaggye mu mikono gyange? Kale Heezeekiya aleme kubalimbalimba wadde okubasendasenda bw'atyo, era temumukkiriza, kubanga tewali lubaale wa ggwanga na limu oba bwakabaka, eyasobola okuwonya abantu be n'abaggya mu mikono gyange n'egya bajjajjange. Kale olwo Katonda wammwe anaabawonya atya okubaggya mu mikono gyange?” Abakungu ba Assiriya ne beeyongera okuvuma Mukama, n'omuweereza we Heezeekiya. Era n'awandiika ebbaluwa okuvvoola Mukama Katonda wa Yisirayeli, n'okumwogerako obubi nti: “Nga balubaale b'amawanga ag'omu nsi endala bwe bataawonya bantu baabwe okubaggya mu mikono gyange, bw'atyo ne Katonda wa Heezeekiya tajja kuwonya bantu be kubaggya mu mikono gyange.” Ababaka ne baleekaana nnyo nga boogera ebigambo ebyo mu lulimi lw'Abayudaaya nga bigamba abantu b'e Yerusaalemu abaali ku kigo ky'ekibuga okubakanga n'okubatiisa, bo balyoke bawambe ekibuga. Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemu nga bwe boogera ku balubaale ab'amawanga ag'omu nsi abantu be beekolera n'emikono gyabwe. Awo Heezeekiya kabaka ne Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi ne basaba Katonda, ne bamwegayirira olw'ekyo. Mukama n'atuma malayika, n'asaanyaawo abaserikale bonna ab'amaanyi abazira n'abaduumizi, n'abakulu b'eggye mu lusiisira lwa kabaka wa Assiriya. Awo kabaka w'Assiriya n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Awo bwe yatuuka mu ssabo lya lubaale we, abamu ku batabani be ne bamutemula n'ekitala. Bw'atyo Mukama n'awonya Heezeekiya n'abo abaali mu Yerusaalemu n'abaggya mu mikono gya Sennakeribu kabaka wa Assiriya, ne mu mikono gy'abalabe baabwe abalala bonna, n'abaluŋŋamya ku njuyi zonna. Awo bangi ne bajja e Yerusaalemu nga baleetera Mukama ebitone, ne Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya amakula ag'omuwendo. Okuva olwo Heezeekiya amawanga gonna ne gamussaamu ekitiibwa. Mu biseera ebyo Heezeekiya n'alwala, n'ajula okufa. Ne yeegayirira Mukama, Mukama n'ayogera naye era n'amuwa akabonero nti ajja kuwona. Wabula Heezeekiya ne yeekuza n'ateebaza nga bwe kyali kigwanira olw'ekirungi kye yakolerwa, Mukama kyeyava amusunguwalira ye ne Buyudaaya era ne Yerusaalemu. Kyokka Heezeekiya n'abantu b'omu Yerusaalemu ne beetoowaza olw'okwekuza kwe okwo, Mukama n'atabasunguwalira mu mirembe gya Heezeekiya. Heezeekiya n'afuna obugagga bungi n'ekitiibwa kinene. Ne yeefunira amawanika ag'okuterekamu ffeeza ne zaabu, n'amayinja ag'omuwendo, n'ebyakaloosa, n'engabo, n'ebintu byonna ebirungi, n'amayumba agaterekebwamu ebikungulwa eby'eŋŋaano, n'omwenge gw'emizabbibu, n'omuzigo gw'emizayiti, n'ennyumba ez'ebisolo ebirundibwa ebya buli ngeri, n'amagana mu bisibo. Era ne yeezimbira ebibuga, n'afuna endiga n'embuzi n'ente nnyingi, kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo ddala. Era Heezeekiya oyo ye yaziba omukutu gw'amazzi ogw'engulu ogw'Oluzzi lwa Gihoni, n'agatemera ogwo ogw'okugaserengesa ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga kya Dawudi. Heezeekiya yalina omukisa mu byonna bye yakola. Era ne mu by'ababaka b'abakungu b'e Babilooni abaamutumirwa okubuuza ekyamagero ekyatuuka mu nsi ye, Katonda n'amuleka okumugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe. N'ebirala byonna ebifa ku Heezeekiya, n'ebikolwa bye ebirungi biwandiikiddwa mu Kulabikirwa kwa Yisaaya Omulanzi, Mutabani wa Amozi, ne mu Kitabo kya Bassekabaka ba Buyudaaya ne Yisirayeli. Awo Heezeekiya ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kitundu ekya waggulu eky'amasiro ga bazzukulu ba Dawudi. Ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Mutabani we Manasse n'amusikira. Manasse yali wa myaka kkumi n'ebiri we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemu. N'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'agoberera empisa embi ddala ez'ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli bajja. Kubanga yazimba buggya ebifo ebigulumivu Heezeekiya kitaawe bye yali amenyeemenye. N'ateerawo Baali alutaari, n'akola ebifaananyi bya lubaale Asera, era n'asinza ebyakira mu ggulu, n'abiweerezanga. N'azimba zaalutaari mu Ssinzizo, Mukama lye yayogerako nti: “Mu Yerusaalemu mwe banansinzizanga ennaku zonna.” Era n'azimbira ebyakira mu ggulu byonna zaalutaari mu mpya ebbiri ez'Essinzizo. Era n'ayokera batabani be mu kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu ng'ekiweebwayo ekyokebwa era ne yeebuuzanga ku mmandwa ne ku balaguzi, n'akola eby'obulogo, n'akolagananga n'abasamize. N'akola ebibi bingi n'asunguwaza Mukama. Ekifaananyi kya lubaale kye yakola, n'akiteeka mu Ssinzizo, Katonda lye yagamba Dawudi ne Solomooni mutabani we nti: “Mu Ssinzizo lino, ne mu Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza mu bibuga by'Ebika byonna ebya Yisirayeli, mwe baba bansinzizanga ennaku zonna. Era siriddamu kuggya Bayisirayeli mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe banassangayo omwoyo okukola byonna bye mbalagidde n'okukuuma amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo, bye nabawa nga mbiyisa mu Musa.” Manasse n'awabya ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ne bakola ebibi okusinga n'ab'amawanga Mukama ge yazikiriza ng'Abayisirayeli bajja mu nsi eyo. Awo Mukama n'ayogera ne Manasse n'abantu be, naye ne batafaayo. Mukama kyeyava aleka abaduumizi b'eggye lya kabaka w'Assiriya ne bakwata Manasse n'ebyuma ebiri ng'amalobo ne bamusiba ku njegere ez'ekikomo ne bamutwala e Babilooni. Awo bwe yali mu kubonaabona, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. N'asaba Katonda, Katonda n'akkiriza okwegayirira kwe n'awulira by'amusaba, n'amukomyawo e Yerusaalemu mu bwakabaka bwe. Awo Manasse n'amanya nga Mukama ye Katonda. Ebyo bwe byaggwa, Manasse n'azimba ekigo eky'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku ludda olwa Gihoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango gw'Ebyennyanja n'okutuuka mu kitundu ky'ekibuga ekiyitibwa Ofeli. N'akigulumiza waggulu ddala, n'ateeka abaduumizi b'amagye mu bibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo. N'aggya mu Ssinzizo balubaale b'abagwira, n'ekifaananyi kye yali ataddemu, ne zaalutaari ze yali azimbye ku lusozi olw'Essinzizo n'awalala mu Yerusaalemu. Ebyo byonna n'abisuula ebweru w'e kibuga. N'azimba buggya alutaari ya Mukama, n'aweerayo ebitambiro ebiweebwayo olw'okutabagana, n'eby'okwebaza, n'alagira ab'omu Buyudaaya okuweerezanga Mukama Katonda wa Yisirayeli. Newaakubadde abantu baali bakyaweerayo ebitambiro mu bifo ebigulumivu, wabula nga babiwaayo eri Mukama Katonda waabwe yekka. N'ebirala byonna Manasse bye yakola, n'okusaba kwe yasabamu Katonda we, n'ebigambo abalanzi bye baayogeranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Yisirayeli, byawandiikibwa mu Bikolwa bya Bassekabaka ba Yisirayeli. Kye yasaba Katonda era nga Katonda bwe yakkiriza kye yamusaba, ebibi bye byonna n'okusobya kwe, n'ebifo ebigulumivu bye yazimba okusinzizangamu, n'ebifaananyi bya lubaale Asera bye yateekawo, wamu n'ebifaananyi ebyole bye yakola nga tannaba kwetoowaza, byonna byawandiikibwa mu Byafaayo bya Hozayi. Awo Manasse ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we n'amusikira. Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemu. N'akola ebitasiimibwa Mukama, nga Manasse kitaawe bye yakola. Amoni n'awangayo ebitambiro eri ebifaananyi ebyole, Manasse kitaawe bye yakola, n'abisinzanga. Ye n'ateetoowaliza Mukama nga Manasse kitaawe bwe yeetoowaza, wabula Amoni oyo ne yeeyongera bweyongezi okusobya. Abakungu be ne bamukolera olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. Kyokka abantu b'omu nsi eyo ne batta bonna abaakolera Kabaka Amoni olukwe, ne bateekako mutabani we Yosiya, n'amusikira ku bwakabaka. Yosiya yali wa myaka munaana we yafuukira kabaka wa Buyudaaya. N'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemu. N'akolanga ebyo Mukama by'asiima n'aba n'empisa ng'eza Dawudi jjajjaawe, n'atakyukakyuka kudda eno n'eri. Kubanga mu mwaka ogw'omunaana mu bufuzi bwe, ng'akyali muto, n'atandika okusinza Katonda wa Dawudi jjajjaawe. Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri n'atandika okugogola Buyudaaya ne Yerusaalemu okumalamu ebifo ebigulumivu bye baasinzizaamu n'ebifaananyi bya lubaale Asera, n'ebifaananyi ebyole n'ebiweese. Ne bamenyaamenya alutaari za Baali, Yosiya ng'alaba, n'obutuuti obwoterezebwako obubaane waggulu waazo n'abutemaatema, n'ebifaananyi bya lubaale Asera ebyole n'ebiweese n'abisekulasekula, n'abifuula enfuufu, n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga. Era n'ayokera amagumba g'abakabona baabyo ku alutaari zaabyo n'atukuza Buyudaaya ne Yerusaalemu. Era bw'atyo bwe yakola ne mu bibuga bya Manasse, n'ebya Efurayimu n'ebya Simyoni okutuukira ddala ne mu bya Nafutaali, ne mu bifo ebyafuuka amatongo ebibyetoolodde. N'amenyaamenya zaalutaari, n'asekulasekula ebifaananyi bya lubaale Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'abifuula enfuufu. N'atemaatema zaalutaari zonna ezooterezebwako obubaane mu Yisirayeli yonna, n'alyoka akomawo e Yerusaalemu. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Yosiya, kabaka oyo Yosiya bwe yamala okugogola eggwanga n'Essinzizo, n'atuma Safani, mutabani wa Azaliya ne Maaseya omufuzi w'ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowahaazi omuwandiisi w'ebigwawo, okuddaabiriza Essinzizo lya Mukama Katonda we. Ne bajja eri Hilukiya Ssaabakabona, ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu Ssinzizo, Abaleevi abaggazi ze baasolooza ku bantu ba Manasse ne Efurayimu, n'ab'ebitundu ebirala byonna ebya Yisirayeli, n'ab'omu kitundu kya Yuda n'ekya Benyamiini, ne ku b'omu Yerusaalemu. Ne bazikwasa abakozi abalabirira Essinzizo. Abakozi abo abakola mu Ssinzizo ne baziwaayo okulongoosa n'okuddaabiriza Essinzizo. Ne baziwa ababazzi n'abazimbi okugula amayinja amabajje n'emiti okuddaabiriza amayumba, bassekabaka ba Buyudaaya ge baaleka okwonooneka. Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa. Ne bateekebwako Yahati ne Obadiya Abaleevi ab'omu lulyo lwa Merari, ne Zekariya ne Mesullamu ab'omu lulyo lw'Abakohati okubalabirira. Abaleevi, bonna abaali abakugu mu bivuga, be baalabiriranga abeetissi b'ebintu era nga be bakozesa bonna abaakolanga emirimu egya buli ngeri. Ku Baleevi kwaliko abawandiisi, n'abaami n'abaggazi. Bwe baali baggyayo ensimbi ezaaleetebwa mu Ssinzizo, Hilukiya kabona n'azuula ekitabo ky'Amateeka, Mukama ge yawa ng'ayita mu Musa. Awo Hilukiya n'agamba Safani omuwandiisi nti: “Nzudde ekitabo ky'Amateeka mu Ssinzizo.” Hilukiya ekitabo n'akiwa Safani. Safani n'atwala ekitabo ekyo eri kabaka, era n'ayanjulira kabaka nti: “Abaweereza bo bakola byonna ebyabakwasibwa. Baggyeeyo ensimbi ezibadde mu Ssinzizo, ne bazikwasa abalabirira omulimu era n'abakozi.” Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti: “Hilukiya kabona ampadde ekitabo.” Safani n'akisomeramu kabaka. Awo kabaka bwe yawulira ebigambo eby'omu Kitabo ky'Amateeka, n'ayuza ebyambalo bye olw'okweraliikirira. Awo kabaka n'alagira Hilukiya ne Ahikaamu mutabani wa Safani, ne Abudooni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka, ng'agamba nti: “Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abo abaasigalawo mu Yisirayeli ne Buyudaaya ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama, okukola nga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino bwe biri.” Awo Hilukiya n'abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Huluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokati, era muzzukulu wa Hasura, omukuumi w'etterekero ly'ebyambalo. Omukazi oyo yabeeranga mu kitundu ekipya ekya Yerusaalemu. Ne boogera naye ku nsonga eyo. N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Omuntu abatumye gye ndi mumugambe nti: Mukama agamba nti, ‘Akabi ak'ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomedde kabaka wa Buyudaaya nja kukatuusa ku kifo kino, ne ku bakibeeramu. Kubanga banvuddeko, ne bootereza balubaale obubaane okunsuguwaza n'ebyo byonna bye bakoze, obusungu bwange kyebuvudde bukoleera ku kifo kino, era tebujja kuzikira. Naye kabaka wa Buyudaaya abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti: Nze Mukama Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti ku bigambo by'owulidde, omutima gwo nga bwe gubadde omugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo, era n'okaaba amaziga bw'owulidde ebigambo bye ŋŋamba ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nange nkuwulidde. Kale ndikutwala eri bajjajjaabo, n'oziikibwa mirembe, era toliraba ku kabi ke ndituusa ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu.’ ” Ne bagenda, ne babibuulira kabaka. Awo kabaka n'atumya abakulembeze bonna aba Buyudaaya n'aba Yerusaalemu n'abakuŋŋaanya. Kabaka n'ayambuka mu Ssinzizo wamu n'abasajja bonna ab'omu Buyudaaya n'ababeera mu Yerusaalemu, ne bakabona n'Abaleevi era n'abantu abalala bonna abakulu n'abato, n'asoma nga bawulira ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekyazuulibwa mu Ssinzizo. Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, n'alagaanya Mukama okumuwuliranga, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, nti anaabikwatanga n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, era anaatuukirizanga ebigambo by'endagaano, nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ekyo. Awo n'akubiriza Ababenyamiini n'abantu bonna abaaliwo mu Yerusaalemu okukakasa nti bajja kukuuma endagaano eyo. Awo ab'omu Yerusaalemu ne bakuuma endagaano ya Katonda, Katonda wa Bajjajjaabwe. Yosiya n'aggya ebyenyinyalwa byonna mu nsi y'Abayisirayeli. N'akubiriza bonna ab'omu Yisirayeli okuweereza Mukama, Katonda waabwe. Mu mulembe gwe gwonna, tebaalekayo kuweereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Awo Yosiya n'akolera Mukama mu Yerusaalemu Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye. N'awa bakabona emirimu egy'okukola mu Ssinzizo, n'abagumya okugikola obulungi. Abaleevi abaayigirizanga abantu mu Yisirayeli mwonna era abaali abatukuvu eri Mukama, n'abagamba nti: “Muteeke Essanduuko Entukuvu mu Ssinzizo, Solomooni mutabani wa Dawudi kabaka wa Yisirayeli lye yazimba. Tewakyali kugitwaliranga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n'abantu be Abayisirayeli. Mweteeketeeke mu mpalo zammwe ng'ennyumba za bajjajjammwe bwe ziri, nga mugoberera entegeka eyawandiikibwa Dawudi kabaka wa Yisirayeli, ne Solomooni mutabani we. Era muyimirire mu Kifo Ekitukuvu, nga mugoberera ebibinja by'ennyumba za bajjajja ba baganda bammwe abatali Baleevi, buli kibinja kibeeko ab'ennyumba ya bajjajja b'Abaleevi. Mutte omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, mwetukuze, era muteekereteekere baganda bammwe okukola nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.” Awo Yosiya n'atoola mu magana ge ne mu bisibo bye abaana b'endiga n'ab'embuzi emitwalo esatu, n'ente ennume enkumi ssatu, n'aziwa abantu bonna abaaliwo abatali Baleevi zibe ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. N'abakungu be nga beeyagalidde ne bawa abantu ne bakabona n'Abaleevi ebintu eby'okukozesa. Hilukiya ne Zekariya ne Yehiyeeli abakulira Essinzizo, ne bawa bakabona abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n'ente ennume ebikumi bisatu ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Era ne Konaniya ne Semaaya ne Nataneeli baganda be, ne Hasabiya ne Yayeli ne Yozabadi abakulu b'Abaleevi, ne bawa Abaleevi abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi ttaano ez'ebiweebwayo eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ebikolebwa okweteekateeka bwe byaggwa, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, nga kabaka bwe yalagira. Ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Abaleevi ne bagubaaga. Bakabona ne bamansira omusaayi, nga gubaweebwa Abaleevi, ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa babiwe ebibinja by'ennyumba za bajjajja b'abantu abatali Baleevi, okuwaayo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ku nte. Ne bookya omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga bwe kiragirwa. N'ebiweebwayo ebitukuvu, ne babifumba mu ntamu ne mu sseffuliya ne mu nsaka, ne babitwalira mangu abantu bonna abatali Baleevi. Oluvannyuma bo bennyini ne beeteekerateekera era ne bateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Arooni kubanga bakabona tebaalina bbanga, nga bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, era n'amasavu okutuusa obudde okuziba, Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo bennyini ne bateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Arooni. Abayimbi ab'olulyo lwa Asafu baali mu bifo byabwe, nga Dawudi ne Asafu ne Hemani, ne Yedutuuni omulabi wa kabaka bwe baalagira. N'abaggazi ne batava ku miryango, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera. Bwe gutyo omukolo gwonna ogw'okusinza Mukama ne guteekebwateekebwa ku lunaku olwo, okukola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku alutaari ya Mukama, nga kabaka Yosiya bwe yalagira. Okumala ennaku musanvu Abayisirayeli bonna abaaliyo, ne bakola mu kiseera ekyo Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Okuva mu biseera bya Samweli omulanzi waali tewabangawo Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako ng'eno mu Yisirayeli. Era mu bassekabaka waali tewabangawo akola Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako nga Yosiya gye yakola. Bakabona n'Abaleevi n'ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu baaliyo. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Yosiya, Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako lwe yaliwo. Ebyo byonna bwe byaggwa, Yosiya ng'amaze okuteekateeka Essinzizo, Neeko kabaka w'e Misiri n'ajja okulwanira olutalo e Karukemisi ku Mugga Ewufuraate. Yosiya n'agenda okumulwanyisa. Wabula Neeko n'amutumira ababaka ng'agamba nti: “Nkulinako luyombo ki ggwe kabaka wa Buyudaaya? Ku mulundi guno sizze kulumba ggwe, wabula ab'ennyumba gye naggulako olutalo, era Katonda andagidde okwanguwa. Vva ku Katonda ali nange, aleme okukuzikiriza.” Kyokka Yosiya n'agaana okumuvaako, n'atawuliriza bigambo bya Neeko, Katonda bye yamwogeza, wabula ne yeefuulafuula n'agenda okulwanira mu kiwonvu Megiddo. Abalasi b'obusaale ne balasa Kabaka Yosiya, n'agamba abaweereza be nti “Munzigyewo, kubanga nfumitiddwa nnyo.” Awo abaweereza be ne bamuggya mu kigaali kye, ne bamuteeka mu kigaali ekyokubiri kye yalina, ne bamutwala e Yerusaalemu. N'akisa omukono, n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Ab'omu Buyudaaya bonna n'ab'omu Yerusaalemu ne bakaabira Yosiya. Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya. Abayimbi bonna abasajja n'abakazi ne bagifuula mpisa mu Yisirayeli okuyimba ku Yosiya nga bamukungubagira n'okutuusa kati. Era ennyimba zaabwe zaawandiikibwa mu z'okukungubaga. N'ebirala byonna ebifa ku Yosiya n'ebirungi bye yakola ng'agoberera ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama n'ebimufaako ebyasooka n'ebyasembayo, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Yisirayeli ne Buyudaaya. Awo abantu b'omu Buyudaaya ne balonda Yehoyahaazi mutabani wa Yosiya ne bamufuula Kabaka okusikira kitaawe mu Yerusaalemu. Yehoyahaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu we yatandikira okufuga. N'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemu. Kabaka w'e Misiri n'amuggya ku bwa kabaka mu Yerusaalemu, n'aweesa ensi eyo omusolo gwa talanta kikumi eza ffeeza ne talanta emu eya zaabu. Kabaka we Misiri oyo n'addira Eliyakimu muganda wa Yehoyahaazi n'amufuula kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu, n'akyusa erinnya lya Eliyakimu, n'amutuuma Yehoyakiimu. Neeko n'akwata Yehoyahaazi muganda wa Yehoyakiimu, n'amutwala e Misiri. Yehoyakiimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka. N'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu, n'akola ebitaasiimibwa Mukama Katonda we. Nebukadunezzari Kabaka w'e Babilooni n'ajja n'amulwanyisa n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babilooni. Nebukadunezzari era n'atwala ku bintu eby'omu Ssinzizo n'abiteeka mu lubiri lwe e Babilooni. Ebirala ebifa ku Yehoyakiimu, n'ebimuvunaanibwa, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Bassekabaka ba Yisirayeli ne Buyudaaya. Yehoyakiini mutabani we ye yamusikira. Yehoyakiini yali wa myaka munaana we yafuukira kabaka. N'afugira emyezi esatu n'ennaku kkumi mu Yerusaalemu. N'akola ebitasiimibwa Mukama. Ekiseera ky'omwaka ebimera mwe bitojjerera bwe kyatuuka, kabaka Nebukadunezzari n'amutumya, ne bamuleeta e Babilooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu Ssinzizo, n'ateekawo Zeddeekiya muganda wa Yehoyakiini okuba kabaka wa Buyudaaya ne Yerusaalemu. Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu we yafuukira kabaka. N'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu. N'akola ebitasiimibwa Mukama Katonda we. N'ateetoowaliza Yeremiya omulanzi eyamubuulira Mukama bye yamutuma, era n'ajeemera kabaka Nebukadunezzari, eyali amulayizza Katonda nti anaamuwuliranga, naye n'aguguba n'akakanyaza omutima gwe, n'ateenenyeza Mukama Katonda wa Yisirayeli. Era bakabona abakulu, n'abantu bonna nabo ne basobya nnyo, ne bagoberera ebyenyinyalwa byonna eby'ab'amawanga amalala, ne boonoona Essinzizo, Mukama lye yatukuza mu Yerusaalemu. Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'ayongera okubatumiranga ababaka be awatali kwosa, kubanga yali akwatirwa bo n'Essinzizo lye ekisa. Naye ne basekerera ababaka ba Katonda, ne banyoomoola ebigambo bye, ne bayisa bubi abalanzi be, okutuusa Mukama lwe yasunguwalira ennyo abantu be, nga tebakyalina bwe bawona. Awo Mukama n'aleeta kabaka w'Abakaludaaya okubalwanyisa, n'attira abavubuka baabwe mu kifo kyabwe eky'Essinzizo, awatali kusaasira muntu n'omu omulenzi wadde omuwala, omukadde wadde akootakoota. Katonda n'abawaayo bonna mu mikono gya kabaka. N'ebintu byonna eby'omu Ssinzizo, ebinene n'ebitono n'ebyobugagga eby'omu Ssinzizo, n'ebya kabaka era n'eby'abakungu be, byonna kabaka w'Abakaludaaya n'abitwala e Babilooni. Ne bookya Essinzizo ne bamenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu ne bookya amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi. N'abo abaawona okuttibwa ne batwalibwa e Babilooni ne baba baddu ba kabaka waayo, n'aba batabani be, okutuusa ku bufuzi bw'obwakabaka bwa Perusiya. Ekyo kyabaawo okutuukiriza ekigambo kya Mukama kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya nti: “Ensi eribeera matongo okumala emyaka nsanvu, okusasula ekiwummulo kya Sabbaato ekitaakuumibwa.” Mu mwaka omubereberye ogw'obufuzi bwa Kuuro kabaka wa Perusiya, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye, kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza kabaka wa Perusiya, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa nti: “Kuuro kabaka wa Perusiya agamba nti: ‘Mukama Katonda w'eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi era ankuutidde okumuzimbira Essinzizo mu Yerusaalemu ekiri mu Buyudaaya. Kale buli ali mu mmwe ku bantu be, ayambukeyo, Mukama Katonda we abeere wamu naye.’ ” Mu mwaka omubereberye ogw'obufuzi bwa Kuuro Kabaka wa Perusiya, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye, kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza kabaka wa Perusiya, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa bwe kiti: “Kuuro Kabaka wa Perusiya agamba nti: Mukama Katonda w'eggulu, ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi, era ankuutidde okumuzimbira Essinzizo mu Abasiriya ekiri mu Buyudaaya. Katonda abeere nammwe mwenna abantu be. Mujja kugenda e Abasiriya ekiri mu Buyudaaya, muddemu okuzimba Essinzizo lya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Katonda abeera mu Abasiriya. Era buli Muyudaaya ali mu buwaŋŋanguse ng'ayagala okuyambibwa addeyo, abantu b'abeeramu bamuyambe, nga bamuwa ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala ebikalu, n'ebisolo, nga kw'otadde n'ebiweebwayo, eby'okuwaayo mu Ssinzizo lya Katonda eriri mu Abasiriya.” Awo abakulu b'ennyumba mu bika ekya Yuda n'ekya Benyamiini, ne bakabona, n'Abaleevi, na buli omu Katonda gwe yakubiriza, ne basituka okugenda e Abasiriya, baddemu okuzimba Essinzizo lya Mukama. Baliraanwa baabwe ne babayamba nga babawa ebintu ebya ffeeza, ne zaabu, n'ebintu ebirala, n'ebisolo, n'ebirabo eby'omuwendo ennyo, nga kw'otadde n'ebiweebwayo eby'okuwaayo mu Ssinzizo. Era Kabaka Kuuro n'abaddiza ebintu Nebukadunezzari bye yali aggye mu Ssinzizo lya Mukama e Abasiriya n'abiteeka mu ssabo lya balubaale be. Kuuro Kabaka wa Perusiya n'abikwasa Mitiredati omuwanika, eyabibalira Sesubazzari omufuzi wa Buyudaaya. Era byali bwe biti: essowaani za zaabu amakumi asatu, Essowaani za ffeeza lukumi, obwambe amakumi abiri mu mwenda, ebibya ebya zaabu amakumi asatu, ebibya ebya ffeeza eby'omutindo ogwokubiri ebikumi bina mu kkumi, n'ebibya ebirala lukumi. Zonna awamu essowaani eza zaabu n'eza ffeeza zaali enkumi ttaano mu bina. Ebintu ebyo byonna Sesubazzari yagenda nabyo, ye n'abawaŋŋanguse abalala nga bava e Babilooni okudda e Abasiriya. Bano be bantu ab'omu ttwale ly'e Buyudaaya, abamu ku abo abaawaŋŋangusirizibwa mu Babilooni ne babeerayo okuviira ddala Kabaka Nebukadunezzari lwe yabatwalayo nga basibe, abaakomawo mu Abasiriya ne mu bitundu ebirala eby'omu Buyudaaya, buli omu n'adda mu kibuga ky'ewaabwe. Abakulembeze baabwe baali: Zerubabbeeli, Yeswa, Nehemiya, Seraya, Reeraya, Moruddekaayi, Bilisani, Misupaari, Bigivayi, Rehumu, ne Baana. Luno lwe lukalala lw'abasajja b'omu Yisirayeli abaava mu buwaŋŋanguse: Ab'ezzadde lya Parosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri. Ab'ezzadde lya Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri. Ab'ezzadde lya Ara, lusanvu mu nsanvu mu bataano. Ab'ezzadde lya Pahatimowaabu nga be b'ezzadde lya Yeswa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri. Ab'ezzadde lya Elamu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana. Ab'ezzadde lya Zattu, lwenda mu ana mu bataano. Ab'ezzadde lya Zakkayi, lusanvu mu nkaaga. Ab'ezzadde lya Bani, lukaaga mu ana mu babiri. Ab'ezzadde lya Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu. Ab'ezzadde lya Azugaadi, lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri. Ab'ezzadde lya Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu mukaaga. Ab'ezzadde lya Biguvaayi, enkumi bbiri mu ataano mu mukaaga. Ab'ezzadde lya Adini, bina mu ataano mu bana. Ab'ezzadde lya Ateri era ayitibwa Heezeekiya kyenda mu munaana. Ab'ezzadde lya Bezayi, bisatu mu abiri mu basatu. Ab'ezzadde lya Yola, kikumi mu kkumi na babiri. Ab'ezzadde lya Hasumu, bibiri mu abiri mu basatu. Ab'ezzadde lya Gibbari, kyenda mu bataano. Ab'ezzadde lya Betilehemu, kikumi mu abiri mu basatu. Abasajja b'e Netofa, amakumi ataano mu mukaaga. Abasajja b'e Anatooti, kikumi mu abiri mu munaana. Ab'ezzadde lya Azumaveti, ana mu babiri. Ab'ezzadde lya Kiriyati Ariimu, Kefira, ne Beeroti, lusanvu mu ana mu basatu. Ab'ezzadde lya Raama ne Gaba, lukaaga mu abiri mu omu. Abasajja b'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri. Abasajja b'e Beteli ne Ayi, bibiri mu abiri mu basatu. Ab'ezzadde lya Nebo, ataano mu babiri. Ab'ezzadde lya Magubisi, kikumi mu ataano mu mukaaga. Ab'ezzadde lya Elamu omulala, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana. Ab'ezzadde lya Arimu, bisatu mu abiri. Ab'ezzadde lya Loodi, Hadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano. Ab'ezzadde lya Yeriko, bisatu mu ana mu bataano. Ab'ezzadde lya Senna, enkumi ssatu mu lukaaga mu asatu. Bakabona be bano: Ab'ezzadde lya Yedaaya, ab'ennyumba ya Yeswa, lwenda mu nsanvu mu basatu. Ab'ezzadde lya Yimmeri, lukumi mu ataano mu babiri. Ab'ezzadde lya Pasuri, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu. Ab'ezzadde lya Harimu, lukumi mu kkumi na musanvu. Abaleevi be bano: ab'ezzadde lya Yeswa ne Kadumyeli, ab'ennyumba ya Hoodaviya, nsanvu mu bana. Abayimbi: ab'ezzadde lya Asafu, kikumi mu abiri mu munaana. Ab'ezzadde ly'abaggazi be bano: ab'ezzadde lya Sallumu, n'aba Ateri, n'aba Talumooni, n'aba Akkubu, n'aba Hatita, n'aba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda. Abaana b'abaweereza b'omu Ssinzizo be bano: Ab'ezzadde lya Ziha, ab'ezzadde lya Hasufa, ab'ezzadde lya Tabbawooti: ab'ezzadde lya Kerosi, ab'ezzadde lya Siyaha, ab'ezzadde lya Padoni, ab'ezzadde lya Lebana, ab'ezzadde lya Hagaba, ab'ezzadde lya Akkubu, ab'ezzadde lya Agabu, ab'ezzadde lya Samulaayi, ab'ezzadde lya Hanani, ab'ezzadde lya Giddeli, ab'ezzadde lya Gahari, ab'ezzadde lya Reyaaya, ab'ezzadde lya Rezini, ab'ezzadde lya Nekoda, ab'ezzadde lya Gazzamu, ab'ezzadde lya Wuzza, ab'ezzadde lya Paseya, ab'ezzadde lya Besayi, ab'ezzadde lya Asuna, ab'ezzadde lya Mewuniimu, ab'ezzadde lya Nefisimu, ab'ezzadde lya Bakubuki, ab'ezzadde lya Hakufa, ab'ezzadde lya Haruhuli, ab'ezzadde lya Bazuluti, ab'ezzadde lya Mehida, ab'ezzadde lya Harusa, ab'ezzadde lya Barukosi, ab'ezzadde lya Sisera, ab'ezzadde lya Tema, ab'ezzadde lya Neziya, ab'ezzadde lya Hatifa. Ab'ezzadde ly'abaddu ba Solomooni: ab'ezzadde lya Sotayi, ab'ezzadde lya Hassofereti, ab'ezzadde lya Peruda, ab'ezzadde lya Yaala, ab'ezzadde lya Darukoni, ab'ezzadde lya Giddeli, ab'ezzadde lya Sefatiya, ab'ezzadde lya Hattili, ab'ezzadde lya Pokereti Azzebayimu, n'b'ezzadde lya Ami. Abaweereza b'omu Ssinzizo, n'abaana b'abaweereza ba Solomooni bonna awamu baali bisatu mu kyenda mu babiri. Abaava e Telumela, n'e Teluharusa, n'e Kerubi, n'e Addani, n'e Yimmeri, naye ne batasobola kukakasa buzaale bwabwe oba okulaga nti Bayisirayeli, be bano: ab'ezzadde lya Delaaya, ab'ezzadde lya Tobiya, n'ab'ezzadde lya Nekoda. Bonna wamu baali lukaaga mu ataano mu babiri. Era ab'ezzadde lya bakabona be bano: ab'ezzadde lya Habaaya, ab'ezzadde lya Hakkozi, ab'ezzadde lya Baruzillayi. Baruzillayi oyo yawasa omu ku bawala ba Baruzillayi Omugileyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe. Abo ne banoonya amannya gaabwe mu nkalala z'obuzaale, naye ne batalabikamu, kye baava baboolebwa mu bwakabona nti si balongoofu. Omukulu waabwe n'abagamba nti tebateekwa kulya ku biweebwayo eri Katonda, okutuusa nga bafunye kabona asobola okukozesa Wurimu ne Tummimu. Bonna awamu abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga, nga tobaliddeeko baddu baabwe na bazaana baabwe abaali akasanvu mu ebisatu mu asatu mu musanvu; era baalina abayimbi ebikumi bibiri abasajja n'abakazi. Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga; ennyumbu zaabwe zaali bibiri mu ana mu ttaano; eŋŋamiya zaabwe zaali ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe zaali kakaaga mu lusanvu mu abiri. Abamu ku bakulu b'ebika ebiri mu Abasiriya, bwe baatuuka mu Ssinzizo lya Mukama, ne bawaayo nga beeyagalidde eby'okuyamba okuddamu okuzimba Essinzizo lya Katonda mu kifo kyalyo. Ne bawaayo nga bwe baasobola, ebinaakola omulimu ogwo. Byonna ebyaweebwayo byali kilo bitaano eza zaabu, kilo enkumi bbiri mu lunaana eza ffeeza n'ebyambalo bya bakabona kikumi. Bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu abalala, n'abayimbi n'abaggazi, n'abaweereza ab'omu Ssinzizo, ne baabeeranga mu bibuga byabwe, n'Abayisirayeli abalala bonna ne baabeeranga mu bibuga ebyabwe. Mu mwezi ogw'omusanvu, Abayisirayeli bonna nga bamaze okutebenkera mu bibuga byabwe, ne bakuŋŋaanira mu Abasiriya nga bali bumu, Yeswa mutabani wa Yehozadaaki ne bakabona banne, ne Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, wamu n'ab'eŋŋanda ze, ne bazimba alutaari ya Katonda wa Yisirayeli ey'okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. Ne basimba alutaari mu kifo kyayo newaakubadde nga baali batya abantu abali mu nsi eyo. Bwe batyo ne bagiweerangako eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa buli nkya n'akawungeezi. Ne bakuza olunaku olw'okujjuukirirako ensiisira, nga bwe kyawandiikibwa. Buli lunaku ne bawangayo ebitambiro ebyokebwa ebiragirwa okuweebwayo ku lunaku olwo, n'oluvannyuma ne bawangayo ebitambiro ebya bulijjo ebyokebwa, era n'ebyo ebiweebwayo ku Mbaga ey'Okuboneka kw'Omwezi, ne mu nkuŋŋaana zonna eza bulijjo, mwe baasinziriza Mukama, n'ebyo byonna buli muntu bye yawaayo eri Mukama nga yeeyagalidde. Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'omusanvu, kwe baatandikira okuwaayo eri Mukama ebitambiro ebyokebwa, newaakubadde nga baali tebannatandika kuzimba musingi gwa Ssinzizo. Ne bawa abazimbi n'ababazzi ensimbi, era ne bawa ab'e Tiiro n'ab'e Sidoni emmere n'ebyokunywa, n'omuzigo, okuleeta emivule egy'e Lebanooni, nga bagiyisa ku nnyanja okugituusa e Yoppa, nga Kabaka Kuuro ow'e Perusiya bwe yabakkiriza. Awo mu mwezi ogwokubiri ogw'omwaka ogwokubiri nga batuuse mu kifo ky'Essinzizo mu Abasiriya, Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yeswa mutabani wa Yehozadaaki, wamu ne baganda baabwe abalala, ne batandika omulimu. Bakabona n'Abaleevi, n'abo bonna abajja mu Abasiriya nga bavudde mu buwaŋŋanguse, ne babeegattako. Abaleevi abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, ne balondebwa okulabirira omulimu gw'okuzimba Essinzizo. Awo Yeswa ne batabani be, n'ab'eŋŋanda ze, ne Kadumyeli ne batabani be, ne batabani ba Yuda, ne beegatta wamu okulabirira abakozi b'Essinzizo. Baayambibwako batabani ba Henadaadi, Abaleevi, ne batabani baabwe ne baganda baabwe. Awo abazimbi bwe baatandika okuzimba omusingi gw'Essinzizo, bakabona ne bajja nga bambadde ebyambalo byabwe, nga bafuuwa amakondeere, n'Abaleevi ab'omu baana b'Asafu nga bakuba ebitaasa okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Yisirayeli bwe yalagira. Ne bayimba omuddiŋŋanwa nga batendereza era nga beebaza Mukama nga bagamba nti: “Mukama mulungi, n'okwagala kwe ku Yisirayeli kwa mirembe gyonna.” Abantu bonna ne baleekaana nnyo n'amaanyi gaabwe gonna nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw'Essinzizo gutandikiddwa. 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11 Bangi ku bakabona n'Abaleevi, n'abakulu b'ennyumba, abakadde abaalaba Essinzizo eryasooka, bwe baalaba omusingi gw'Essinzizo lino nga guzimbibwa, ne batema emiranga. Naye abalala abaaliwo ne baleekaana nnyo olw'essanyu, nga tewali muntu ayinza kwawula kuleekaana kwa ssanyu na kwa nnaku, kubanga baaleekaana nnyo, oluyoogaano ne luwulirwa wala. Abalabe b'abantu ba Yuda ne Benyamiini bwe baawulira nti abaava mu buwaŋŋanguse bazimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo, ne bagenda balabe Zerubabbeeli n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Ka tuzimbire wamu nammwe Essinzizo, kubanga Katonda gwe musinza naffe gwe tusinza, era tubadde tuwaayo ebitambiro gy'ali, okuva ku mirembe gya Esaruhaddoni, kabaka w'Assiriya, eyatuleeta okubeera wano.” Zerubabbeeli ne Yeswa n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Tetwetaaga buyambi bwammwe okuzimbira Mukama Katonda waffe Essinzizo. Tujja kulyezimbira, nga kabaka Kuuro ow'e Perusiya bwe yatulagira.” Awo abantu abaali babeera mu nsi eyo, ne bagezaako okuterebula n'okutiisatiisa Abayudaaya, baleme okuzimba Essinzizo. Ne bagulirira abawa kabaka amagezi babaziyize, era ne babaziyiza okuzimba, mu kiseera kyonna Kuuro kye yamala nga ye kabaka wa Perusiya, n'okutuusa ku mirembe gya Kabaka Dariyo. Ku ntandikwa y'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero, abalabe abo ne bawandiika ebbaluwa nga baloopa abaali mu Buyudaaya ne mu Abasiriya. Era ku mirembe gya Kabaka Arutazeruzeesi, Bisulamu, ne Mituredaate, ne Tabeeli, ne bannaabwe abalala, ne bawandiikira Kabaka Arutazeruzeesi ow'e Perusiya ebbaluwa. Ebbaluwa eyo yali ewandiikiddwa mu nnukuta ez'Ekyaramayika era mu lulimi Olwaramayika. Rehumu Owessaza ne Simusaayi omuwandiisi, ne bawandiikira Kabaka Arutazeruzeesi ebbaluwa okuloopa ebifa mu Abasiriya, ng'esoma bw'eti: “Evudde wa Rehumu Owessaza ne Simusaayi omuwandiisi, ne bannaabwe abalala abalamuzi, abafuzi, n'abakungu, n'Abaperusi n'abantu ab'Ereki, n'ab'e Babilooni n'ab'e Susa, eky'omu nsi ya Elamu, wamu n'abantu abalala bonna, Oweekitiibwa era Ow'obuyinza Osunappali be yasengula mu maka gaabwe, n'abasenza mu bibuga by'e Samariya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w'omugga.” Bino bye bigambo by'ebbaluwa eyo: “Ya Kabaka Arutazeruzeesi. Abaddu bo ab'emitala w'omugga bakulamusizza. “Ayi Ssaabasajja, tukutegeeza nti Abayudaaya abajja wano nga bavudde eyo gy'oli, bazze mu Abasiriya, era kati bazimba ekibuga ekyo ekijeemu era ekyonoonyi. Batandise okuzimba ebisenge ebikyetoolodde era banaatera okubimaliriza. Ayi Ssaabasajja, ekibuga ekyo, singa kiddamu okuzimbibwa, n'ebisenge byakyo ebikyetoolodde ne babimaliriza, abantu abo bajja kulekera awo okuwa omusolo n'empooza n'obusuulu, era ekyo kijja kukendeeza enfuna yo. Kale nga bwe tufuna obuyambi obuva mu lubiri, tetuyinza kulaba kabaka ng'anyoomebwa, ne tusirika busirisi. Kyetuvudde tukutumira tukubuulire, onoonyereze mu biwandiiko bya bajjajjaabo, ojja kuzuula mu biwandiiko ebyo nga bulijjo ekibuga ekyo kibadde kijeemu, era ng'okuva edda n'edda kitawaanya nnyo bakabaka n'abafuzi ab'amasaza. Abantu baamu bulijjo bazibu nnyo okufuga, era ekyo kye kyakireetera n'okuzikirizibwa. Ayi Ssaabasajja, tukukakasa nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa, n'ebisenge byakyo ebikyetoolodde ne biggwa, oliba tokyasobola kufuga kitundu ky'emitala w'omugga.” Kabaka n'abaddamu nti: “Rehumu Owessaza ne Simusaayi omuwandiisi, ne bannammwe bonna ab'omu Samariya, n'abalala ab'emitala w'omugga, mbalamusizza. “Ebbaluwa gye mwatuweereza, baginsomedde ne ngitegeera, ne ndagira ne banoonyereza, era bazudde ng'ekibuga ekyo okuva edda n'edda kibadde kijeemera bakabaka, era n'okutuusa kati nga kijjudde obwediimo n'obujagalalo. Era Abasiriya, kyafugibwako bakabaka ab'amaanyi, abaafuganga n'ebitundu byonna eby'emitala w'omugga, nga basoloozaamu omusolo, n'obusuulu, n'empooza. N'olwekyo mulagire abantu abo, balekere awo okuzimba ekibuga ekyo, okutuusa lwe ndiwa ekiragiro ekirala. Kino mukikole mangu, akabi kaleme kweyongera kufiiriza kabaka.” Rehumu, ne Simusaayi omuwandiisi, ne bannaabwe abalala, bwe baawulira ebigambo by'ebbaluwa Kabaka Alutazeruzeesi gye yawandiika, ne bagenderawo e Abasiriya, ne bakaka Abayudaaya okuyimiriza omulimu ogwo. Awo omulimu gw'okuzimba Essinzizo mu Abasiriya ne guyimirizibwa, okutuusa mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Dariyo. Awo abalanzi Haggayi ne Zekariya, mutabani wa Yiddo, ne balanga mu linnya lya Katonda wa Yisirayeli, eri Abayudaaya abaali mu Buyudaaya ne Abasiriya. Awo Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yeswa mutabani wa Yehozadaaki, ne basituka ne batandika okuzimba Essinzizo mu Abasiriya. Ne bayambibwako abalanzi ba Katonda. Mu kiseera ekyo, Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi ne bannaabwe abalala, ne bajja e Abasiriya, ne bababuuza nti: “Ani yabawa obuyinza okuzimba ennyumba eno n'okugimaliriza?” Era ne bababuuza nti: “Abasajja abazimbisa ennyumba eno be baani?” Kyokka Katonda w'Abayudaaya n'akuuma abakulu baabwe, olwo abakungu Abaperusiya ne batabayimiriza ka mulimu okutuusa nga bamaze okuwandiikira Kabaka Dariyo, era ng'abazzeemu mu buwandiike. Eno y'ebbaluwa Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi, ne bannaabwe abalala bwe baafuganga ekitundu ekiri emitala w'omugga, gye baaweereza Kabaka Dariyo: “Ya kabaka Dariyo. Emirembe gibeere naawe. Ayi Ssaabasajja tukutegeeza nti twagenda mu kitundu ky'e Buyudaaya mu Ssinzizo lya Katonda, ne tusanga nga balizimbisa amayinja amanene, nga bateeka n'embaawo mu bisenge. Omulimu gukolebwa n'amaanyi era gugenda mu maaso. “Awo ne tubuuza abakulembeze b'abantu nti: ‘Ani yabawa obuyinza okuzimba ennyumba eno, n'okugimaliriza?’ Era ne tubabuuza amannya gaabwe, tulyoke tukutegeeze abantu abakulira omulimu ogwo. “Ne batuddamu nti: ‘Tuli baweereza ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba buggya Essinzizo eryazimbibwa era ne limalirizibwa kabaka wa Yisirayeli omukulu, emyaka mingi egiyise. Kyokka bajjajjaffe bwe baanyiiza Katonda w'eggulu, n'abavaamu. Nebukadunezzari Omukaludaaya, kabaka w'e Babilooni, n'abawamba, n'abatwala mu Babilooniya, n'Essinzizo n'alizikiriza. Awo mu mwaka ogwasooka ogw'obufuzi bwa Kuuro kabaka we Babilooni, Kuuro oyo n'ayisa ekiragiro bazimbe buggya Essinzizo. Era n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza, Nebukadunezzari bye yali aggye mu Ssinzizo e Abasiriya n'abitwala mu ssabo e Babilooni, kabaka Kuuro yabiggyayo mu ssabo e Babilooni n'abikwasa Sesubazzari, gwe yalonda okuba omufuzi. N'amugamba nti: “Twala ebintu bino obiteeke mu Ssinzizo e Abasiriya, era olabe ng'Essinzizo liddamu okuzimbibwa mu kifo we lyali.” Awo Sesubazzari n'ajja, n'azimba omusingi gw'Essinzizo mu Abasiriya. Okuva olwo n'okutuusa kati terinnaggwa, likyazimbibwa.’ “N'olwekyo bw'oba ng'okisiima, ayi Ssaabasajja, lagira banoonye mu biwandiiko eby'obwakabaka e Babilooni, balabe oba nga Kabaka Kuuro yayisa ekiragiro ekikkiriza okuddamu okuzimba Essinzizo e Abasiriya. Era ayi Ssaabasajja tukusaba otutegeeze ky'oyagala ku nsonga eyo.” Awo kabaka Dariyo n'alagira banoonye mu Babilooniya mu mawanika omuterekebwa ebiwandiiko ebitongole. Ne basanga mu kibuga eky'e Ekubatana mu kitundu ky'e Mediya omuzingo gw'ekiwandiiko kino: “Mu mwaka ogwasooka ogw'obufuzi bwa Kabaka Kuuro, kabaka Kuuro oyo yalagira nti Essinzizo eriri mu Abasiriya liddemu okuzimbibwa, okuba ekifo mwe baweerayo ebitambiro, era lizimbibwe ku musingi omugumu. Lijja kuba lya mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu, n'obugazi mita amakumi abiri mu musanvu. Obugazi bw'ebisenge bube bwa mbu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu lw'embaawo empya. Eggwanika ly'obwakabaka lye linaasasulira omulimu ogwo gwonna. Era n'ebintu by'omu Ssinzizo ebya zaabu ne ffeeza Nebukadunezzari bye yaggya e Abasiriya mu Ssinzizo n'abireeta e Babilooni, bizzibweyo mu Ssinzizo e Abasiriya, biteekebwe buli kimu mu kifo we kyali.” Awo Dariyo n'abaddamu nti: “Ya Tattenayi, omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi, ne bafuzi bannammwe abali mu kitundu ekyo, eky'emitala w'omugga. “Omulimu gw'okuzimba Essinzizo muguveeko. Muleke omufuzi w'Abayudaaya n'abakulembeze baabwe be baba bazimba obuggya Essinzizo mu kifo kyalyo mwe lyali. Era mbalagira bye munaakolera abakulu b'Abayudaaya nga baddamu okuzimba Essinzizo: abasajja abo basasulwenga mangu era mu bujjuvu, ku musolo ogukuŋŋaanyizibwa okuva emitala w'omugga, omulimu guleme kuyimirira. Era mubawenga bye beetaaga: ente ennume ento, endiga ennume n'abaana b'endiga, biweebwengayo eri Katonda w'eggulu nga bye biweebwayo ebyokebwa. Mubawenga n'eŋŋaano, n'omunnyo, n'omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti, nga bakabona abali e Abasiriya, bwe banaabanga babyetaaga. Mubibawenga buli lunaku, awatali kwosa, balyoke bawengayo eri Katonda w'eggulu ebitambiro by'asiima, bansabirenga nze kabaka n'Ab'ezzadde lyange. Era ndagira nti: omuntu yenna anaakyusaako etteeka lino, baggye omuti mu nnyumba ye, bagusimbe awanikibweko, era ennyumba ye efuulibwe ekifo awasuulibwa obusa. Katonda eyalonda Abasiriya okuba ekifo eky'okumusinzizangamu, aggyeko bakabaka bonna n'abantu bonna obuyinza, abalikyusaako ekiragiro kino ne bazikiriza Essinzizo eryo eriri e Abasiriya. Nze Dariyo nteese etteeka lino era kye liragira, kituukirizibwe mu bujjuvu.” Awo Tattenayi omufuzi w'ekitundu ekiri emitala w'omugga, ne Setarubozenayi, ne bannaabwe, ne bakolera ddala nga kabaka bwe yalagira. Abakulembeze b'Abayudaaya ne bazimba Essinzizo, nga bayambibwako abalanzi Haggayi ne Zekariya mutabani wa Yiddo. Ne bamaliriza Essinzizo nga Katonda wa Yisirayeli bwe yalagira, era nga n'ekiragiro kya Kuuro ne Dariyo ne Arutazeruzeesi kabaka w'e Perusiya bwe kyali. Essinzizo eryo lyaggwa ku lunaku olwokusatu olw'omwezi Adaari, mu mwaka ogw'omukaaga ogw'obufuzi bwa Kabaka Dariyo. Awo Abayisirayeli: bakabona, n'Abaleevi n'abo abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse ne basanyuka nnyo nga batukuza Essinzizo. Mu kutukuza Essinzizo ne batambira ente ennume kikumi, n'endiga ennume ebikumi bibiri, n'endiga ento ebikumi bina, ne batambira n'embuzi ennume kkumi na bbiri, embuzi emu ku lwa buli kika kya Yisirayeli, nga kye kiweebwayo olw'ebibi by'Abayisirayeli bonna. Era ne bassaawo bakabona nga bwe baagerekebwa, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, baweerezenga mu Ssinzizo mu Abasiriya, nga bwe kyawandiikibwa mu Kitabo kya Musa. Awo ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye, abo bonna abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Olw'okuba bakabona n'Abaleevi beetukuliza wamu, bonna baali balongoofu. Bwe batyo Abaleevi ne batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako ku lw'abo abaava mu buwaŋŋanguse, ne ku lwa baganda baabwe bakabona, ne ku lwabwe bennyini. Awo Abayisirayeli abaava mu buwaŋŋanguse, ne baliira wamu n'abo bonna abaaleka empisa enkyamu ez'ab'amawanga ababeera mu nsi eyo, balyoke basinze Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Awo ne bamala ennaku musanvu nga bakola n'essanyu Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Baali basanyufu, kubanga Mukama yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Assiriya, kabaka oyo n'abaagala, n'abayamba ku mulimu gw'okuzimba obuggya Essinzizo lya Katonda wa Yisirayeli. Ebyo bwe byaggwa, mu bufuzi bwa kabaka Arutazeruzeesi ow'e Perusiya, ne wabaawo omusajja gwe bayita Ezera, mutabani wa Seraya, Seraya mutabani wa Azariya, Azariya mutabani wa Hirukiya, Hirukiya mutabani wa Sallumu, Sallumu mutabani wa Zaddooki, Zaddooki mutabani wa Ahituubu, Ahituubu mutabani wa Amariya, Amariya mutabani wa Azariya, Azariya mutabani wa Merayooti, Merayooti mutabani wa Zerahiya, Zerahiya mutabani wa Wuzzi, Wuzzi mutabani wa Bukki, Bukki mutabani wa Abisuuwa, Abisuuwa mutabani wa Finehaasi, Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, Eleyazaari mutabani wa Arooni Ssaabakabona. Ezera oyo n'ava e Babilooniya n'agenda e Abasiriya. Yali amanyi nnyo eby'omu Mateeka, Mukama Katonda wa Yisirayeli, ge yawa Musa. Kabaka n'awa Ezera byonna bye yamusaba, kubanga Katonda yali wamu ne Ezera oyo. Mu mwaka ogw'omusanvu ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzesi, abamu ku Bayisirayeli n'abamu ku bakabona, n'Abaleevi, n'abayimbi n'abaggazi, n'abaweereza b'omu Ssinzizo, nabo ne bagenda e Abasiriya. Awo Ezera n'atuuka e Abasiriya mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw'omusanvu ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzeesi. Yava e Babilooniya, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogusooka, Katonda n'amuyamba n'atuuka e Abasiriya nga lubereberye omwezi ogwokutaano. Ezera n'anyiikira nnyo okusoma Amateeka ga Mukama, n'okugagoberera n'okugayigirizanga mu Yisirayeli. Kino kye kiwandiiko Arutazeruzeesi kye yawa Ezera kabona era omukugu mu bigambo by'amateeka n'ebiragiro, Mukama bye yawa Abayisirayeli. “Nze Arutazeruzeesi, kabaka wa bakabaka, nkuwandiikidde ggwe Ezera kabona, era omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu. “Ndagira nti mu bwakabaka bwange bwonna, Abayisirayeli bonna, ne bakabona, n'Abaleevi abaagala okugenda naawe e Abasiriya, bakkiriziddwa. Nze kabaka n'abawabuzi bange omusanvu, tukutuma ogende mu Abasiriya ne mu Buyudaaya, olabe oba nga amateeka ga Katonda wo agaakukwasibwa gagobererwa. Era ojja kutwala ffeeza ne zaabu, kabaka n'abakiise be bye bawaddeyo nga beeyagalidde, eri Katonda wa Yisirayeli, alina ekifo kye ky'abeeramu mu Abasiriya. Era ojja kutwala ffeeza ne zaabu gw'onookuŋŋaanya mu kitundu kyonna eky'e Babilooniya, otwale n'eby'Abayisirayeli bonna ne bakabona, bye beetemye okuwaayo nga beeyagalidde ku lw'Essinzizo lya Katonda waabwe e Abasiriya. “Ensimbi ezo, ojja kuzikozesa n'obwegendereza, ozigulemu ente ennume, n'endiga ennume, n'abaana b'endiga, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, era n'ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako, obiweereyo ku alutaari mu Ssinzizo e Abasiriya. Ffeeza ne zaabu ebiriba bisigaddewo mubikozese kyonna Katonda wammwe ky'asiima. Ebintu bye bakuwa okukozesa mu Ssinzizo lya Katonda wammwe, mubitwale mu maaso ga Katonda e Abasiriya. Ebirala byonna ebisigadde nga byetaagibwa okuwaayo mu Ssinzizo, biggyibwe mu ggwanika lya kabaka. “Nze Kabaka Arutazeruzeesi ndagira abawanika bonna ab'omu kitundu eky'emitala w'omugga nti ekintu kyonna Ezera kabona omuwandiisi w'Amateeka ga Katonda w'eggulu ky'anaasaba, bakimuwe awatali kulwa. Bamuwe obutasukka kilo enkumi ssatu mu bina eza ffeeza, ne kilo omutwalo gumu ez'eŋŋaano, ne lita enkumi bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu, ne lita enkumi bbiri ez'omuzigo ogw'emizayiti. Era bamuwe n'omunnyo gwonna gwe yeetaaga. Ekyo kyonna Katonda w'eggulu kye yalagira, mukikolenga mu bujjuvu olw'Essinzizo lye, Katonda aleme okunnyiigira wadde okunyiigira abo abalidda mu bigere byange. Temuggyanga misolo ku bakabona, n'Abaleevi, n'abayimbi, n'abaggazi, n'abakozi wadde abaweereza abalala bonna ab'omu Ssinzizo. “Naawe Ezera, nga weeyambisa amagezi Katonda wo ge yakuwa, londa abafuzi n'abalamuzi, balamulenga abantu bonna abamanyi amateeka ga Katonda wo, abali mu kitundu ekiri emitala w'omugga, era oyigirize amateeka ago buli muntu atagamanyi. Buli muntu anaajeemeranga amateeka ga Katonda wo, oba aga kabaka, aweebwenga ekibonerezo eky'amaanyi, oba kya kuttibwa, oba kya kuwaŋŋangusibwa, oba kya kunyagibwako bibye, oba eky'okusibwa.” Awo Ezera n'agamba nti: “Mukama Katonda wa bajjajjaffe atenderezebwe, eyateeka mu mutima gwa kabaka ekirowoozo ekyenkanidde awo okunyiriza Essinzizo eriri e Abasiriya. Katonda ansaasidde ne njagalibwa kabaka n'abamuwa amagezi, era n'abakungu be ab'amaanyi. Mukama, Katonda wange, ampadde amaanyi ne nsobola okusikiriza abakulembeze mu Yisirayeli okugenda nange.” Bano be bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, era luno lwe lukalala lw'abo abaava e Babilooniya, ku mulembe gwa Kabaka Arutazeruzesi: ku basibuka mu Finehaasi, Gerusoomu; ku basibuka mu Yitamaari, Daniyeli; ku basibuka mu Dawudi, Attusi; ku basibuka mu Sekaniya, mu lunyiriri lwa Parosi, Zekariya, eyawandiikibwa awamu n'abasajja kikumi mu ataano; ku basibuka mu Pahatimowaabu, Eliyehoyenayi mutabani wa Zerahiya, era wamu naye n'abasajja ebikumi bibiri; ku basibuka mu Zattu, Sekaniya mutabani wa Yahaziyeeli, wamu n'abasajja ebikumi bisatu; ku basibuka mu Adini, Ebedi mutabani wa Yonataani wamu n'abasajja amakumi ataano; ku basibuka mu Elamu, Yesaaya mutabani wa Ataliya, wamu n'abasajja nsanvu; ku basibuka mu Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayeli, wamu n'abasajja kinaana; ku basibuka mu Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yehiyeeli, wamu n'abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana; omu ku basibuka mu Selomiti, mutabani wa Yosifiya, wamu n'abasajja kikumi mu nkaaga; ku basibuka mu Bebayi, Zekariya mutabani wa Bebayi, wamu n'abasajja amakumi abiri mu munaana; ku basibuka mu Azugaadi, Yohanaani mutabani wa Akkatani, wamu n'abasajja kikumi mu kkumi; ku basibuka mu Adonikamu, abajja oluvannyuma, amannya gaabwe: Elifeleti, ne Yeweli ne Semaaya, wamu n'abasajja nkaaga; ku basibuka mu Biguvaayi, Wutayi ne Zakkuri, wamu n'abasajja nsanvu. Abo bonna ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogulaga e Ahava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Bwe natunula mu kibinja ky'abantu ne bakabona, ne nsanga nga temuli Muleevi n'omu. Bwe ntyo ne ntumya Eleyazaari, ne Alyeri, ne Semaaya, ne Elunatani, ne Yaribu, ne Elunatani, ne Natani, ne Zekariya ne Mesullamu, abasajja abakulu, era ne Yoyaribu ne Elunatani abasajja abamanyi ensonga. Ne mbatuma okugenda ewa Yiddo omukulembeze w'e Kasifiya, ne mbabuulira bye baba bamugamba ye ne baganda be, abaweereza b'omu Ssinzizo, batuweereze abantu ab'okuweereza Katonda waffe mu Ssinzizo. Olw'obuyinza bwa Katonda, ne batuweereza Serebiya, omusajja Omuyisirayeli ow'amagezi ow'omu Kika kya Leevi era ow'omu nnyumba ya Mahuli. N'ajja ne batabani be ne baganda be, bonna awamu kkumi na munaana. Era ne batuma Hasabiya ne Yesaaya ow'omu nnyumba ya Merari, wamu n'ab'eŋŋanda zaabwe ne batabani baabwe, bonna awamu amakumi abiri. Okwo kweyongerako abaweereza ab'omu Ssinzizo ebikumi bibiri mu abiri, Kabaka Dawudi n'abakungu be, be baawaayo okuyamba Abaleevi. Abo bonna baawandiikibwa amannya gaabwe. Awo ne nnangiririra eyo ku mugga Ahava okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, era tumusabe atukulembere mu lugendo lwaffe, atukuume n'Ab'ezzadde lyaffe era n'ebintu byaffe, kubanga nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka ampe ekibinja ky'abaserikale, n'abeebagala embalaasi batukuume mu balabe baffe nga tugenda. Nali ŋŋambye kabaka nti Katonda waffe awa omukisa buli muntu amwesiga, wabula anyiigira era n'abonereza buli amulekulira. Awo ne tusiiba, ne tusaba Katonda atukuume era n'awulira kye twamusaba. Ebyo bwe byaggwa, ne nnonda bakabona abakulu kkumi na babiri: Serebiya, ne Hasabiya, ne baganda baabwe kkumi. Abo ne mbapimira ffeeza ne zaabu, n'ebintu kabaka n'abawabuzi be, n'abakungu be era n'Abayisirayeli bye baawaayo bikozesebwe mu Ssinzizo. Nabapimira ne mbakwasa ffeeza: talanta lukaaga mu ataano; ebintu ebya ffeeza bya talanta kikumi; zaabu: talanta kikumi, n'ebbakuli eza zaabu amakumi abiri nga zizitowa kilo munaana, n'ebintu bibiri eby'ekikomo ekirungi, ekizigule eky'omuwendo nga zaabu. Ne mbagamba nti: “Muli batukuvu eri Mukama, n'ebintu ebikozesebwa bitukuvu, era ffeeza ne zaabu oyo kye kiweebwayo mu kweyagalira eri Mukama, Katonda wa bajjajjammwe. Mubikuume n'obwegendereza okutuusa lwe munaatuuka mu Ssinzizo, ne mubipimira mu kisenge kya bakabona abakulu, ne mubikwasa abakulembeze ba bakabona abakulu n'ab'Abaleevi era n'abakulembeze b'Abayisirayeli mu Abasiriya.” Awo bakabona n'Abaleevi ne batwala ffeeza, ne zaabu n'ebintu nga bwe byapimibwa, okubireeta e Abasiriya mu Ssinzizo. Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogw'olubereberye, lwe twava ku mugga Ahava okugenda e Abasiriya. Katonda waffe yali wamu naffe, n'atukuuma mu balabe n'abateezi mu kkubo nga tutambula. Bwe twatuuka e Abasiriya, ne tuwummula okumala ennaku ssatu. Ku lunaku olwokuna ne tugenda mu Ssinzizo, ne tupima ffeeza, ne zaabu n'ebintu ebikozesebwa, era ne tubikwasa kabona Meremooti, mutabani wa Wuriya. Baali wamu ne Eleyazaari mutabani wa Finehaasi n'Abaleevi babiri, Yozabadi mutabani wa Yeswa ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi. Buli kintu ne kibalibwa era ne kipimibwa obuzito bwakyo, era byonna ne biwandiikibwa mu kiseera ekyo. Abasibe abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne bawaayo eri Katonda wa Yisirayeli ebiweebwayo ebyokebwa. Ne bawaayo ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Yisirayeli yonna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, endiga ento nsanvu mu musanvu. Era ne bawaayo embuzi ennume kkumi na bbiri, nga kye kiweebwayo olw'ebibi. Ezo zonna ne ziba ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa. Era ne batwala ekiwandiiko kabaka kye yabawa, ne bakiwa abafuzi n'abakungu abali emitala w'omugga, abo ne bayamba abantu era n'Essinzizo. Ebyo bwe byaggwa, abakulembeze ne bajja gye ndi, ne baŋŋamba nti: “Abayisirayeli ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde ku bantu ba nsi ezitwetoolodde. Bakola eby'obugwagwa bye bimu ng'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi, n'Abaamori, n'Abamowaabu, n'Abamisiri, n'Abammoni bye bakola. Bawasa abakazi ab'amawanga amalala, bwe batyo abantu ba Katonda abatukuvu ne boonooneka. Abaami n'abakungu, be basinze okwonooneka.” Awo bwe nawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange olw'okunakuwala, ne nkuunyuula enviiri zange n'ekirevu kyange, ne ntuula, nga nsobeddwa. Awo abo bonna abaatya olw'ebigambo Katonda wa Yisirayeli bye yayogera ku bibi by'abo abaava mu buwaŋŋanguse, ne bakuŋŋaanira we nali ntudde nga ntokooteredde okutuusa mu kiseera eky'okuwaayo ekiweebwayo eky'akawungeezi. Awo mu kiseera eky'ekitambiro eky'akawungeezi ne ngolokoka, ne nva we nali nkungubagira nga nnyambadde ekyambalo kyange n'omunagiro gwange ebiyulifu, ne nfukamira, ne mpanika emikono gyange eri Mukama Katonda wange, Ne ŋŋamba nti: “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi nnyingi okuyimusa amaaso gange gy'oli, ayi Katonda wange. Ebyonoono byaffe byetuumye ne bisukka emitwe gyaffe, n'emisango gyaffe gyetuumye okutuuka ku ggulu. Okuva mu biseera bya bajjajjaffe n'okutuusa kati, tuzizza emisango minene. Era olw'ebibi byaffe ebyo, bakabaka baffe ne bakabona baffe, naffe, kyetuvudde tugwa mu mikono gya bakabaka b'amawanga amalala, era tubadde tuttibwa mu ntalo, ne tunyagibwa ne tutwalibwa nga tuli basibe, ne tuswala nnyo nga bwe tuli kati. Kyokka mu nnaku entono zino, Mukama Katonda waffe atukwatiddwa ekisa, n'atutalizaawo ffe abamu, n'atuwa okuba abanywevu mu kifo kino ekitukuvu, Katonda waffe alyoke atuzzeemu amaanyi, era atuwe okuweeraweerako mu busibe bwaffe. Tuli baddu, naye Katonda waffe tatwabulidde mu buddu bwaffe, wabula atusaasidde ne twagalibwa bakabaka b'e Perusiya, n'atuzzaamu ku maanyi ne tuzimba Essinzizo lya Katonda waffe, n'okuliddaabirizaamu ebyayonooneka, era n'atuteerawo ekisenge ekitutaasa mu Buyudaaya ne mu Abasiriya. “Kale nno kaakano, ayi Katonda waffe, tetulina kya kwogera olw'ebyo byonna ebibaddewo. Tujeemedde ebiragiro byo bye watuwa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi, ng'ogamba nti: ‘Ensi gye mugenda okuyingiramu efuuke yammwe, nnyonoonefu olw'eby'obugwagwa abantu baamu bye bakola, ebigijjuzizza obugwenyufu bwabwe enjuyi zonna. N'olwekyo temuufumbizenga bawala bammwe mu batabani baabwe, era temuuwasizenga batabani bammwe bawala baabwe. Temuunoonyenga kuba mirembe nabo wadde okukulaakulana, mulyoke mubenga ba maanyi, era mulyenga ebirungi ebiri mu nsi eyo, mugirekere Ab'ezzadde lyammwe okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’ Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, tumanyi nga ggwe Katonda waffe, watuwa ekibonerezo kitono okusinga kye twali tusaanidde olw'ebyonoono byaffe, n'otulekawo abawonyeewo abenkana bwe tuti. Kale tuyinza tutya okuddamu okumenya ebiragiro byo ne tufumbiriganwa n'abantu abakola eby'obugwagwa? Singa tukikola, ojja kunyiiga otuzikirize, waleme kusigalawo n'omu awonawo. Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oli mutuukirivu, kubanga tusigaddewo nga ffe batono abawonyeewo n'okutuusa kati. Tuutuno mu maaso go nga tuzzizza omusango olw'ebibi byaffe. Tetusaanidde kuyimirira mu maaso go olw'omusango ogwo.” Awo Ezera bwe yali ng'avuunamye mu maaso g'Essinzizo, ng'asinza, ng'ayatula ebibi ebyo era ng'akaaba, Abayisirayeli bangi nnyo, omwali abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne bakuŋŋaanira w'ali, nga bakaaba nnyo amaziga. Awo Sekaniya, mutabani wa Yehiyeeli, ow'omu zzadde lya Elamu, n'agamba Ezera nti: “Tunyiizizza Katonda waffe, ne tuwasa abakazi ab'amawanga amalala abali mu nsi eno. Naye era Yisirayeli ekyalina essuubi. Kale nno kaakano tukole endagaano ne Katonda waffe, tugobe abakazi bano bonna n'ab'ezzadde lyaabwe, nga tugoberera amagezi, ggwe mukama wange, n'abo abagondera ebiragiro bya Katonda waffe, ge munaatuwa, era tukole ng'amateeka bwe galagira. Situka, kubanga ogwo mulimu gwo, era naffe tuli wamu naawe. Guma omwoyo, okikole.” Awo Ezera n'asituka n'alayiza abakulu ba bakabona n'Abaleevi, n'Abayisirayeli bonna, okukolera ku ekyo ekyogeddwa. Awo ne balayira. Awo Ezera n'asituka n'ava mu maaso g'Essinzizo, n'ayingira mu kisenge kya Yehohanani, mutabani wa Eliyasibu, n'amalayo ekiro ekyo nga talidde era nga tanywedde, ng'akungubagira Abayisirayeli abaava mu buwaŋŋanguse olw'obutaba beesigwa. Ne balangirira mu Buyudaaya ne mu Abasiriya nti abaava mu buwaŋŋanguse bonna bakuŋŋaanire e Abasiriya. Era nti buli atalijja mu bbanga lya nnaku ssatu, ng'abakungu n'abakulembeze bwe balagidde, alifiirwa ebintu bye byonna, era naye yennyini aligobwa mu kibiina ky'abavudde mu buwaŋŋanguse. Awo abasajja bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini ne bakuŋŋaanira e Abasiriya mu bbanga lya nnaku ssatu. Olunaku lwali lwa makumi abiri olw'omwezi ogw'omwenda, abantu bonna ne batuula mu luggya, mu maaso g'Essinzizo, nga bakankana olw'obukulu bw'olukuŋŋaana, n'olw'enkuba ennyingi. Kabona Ezera n'ayimirira n'abagamba nti: “Mwasobya okuwasa abakazi ab'amawanga amalala, ne mwongera ku Yisirayeli omusango. Kale nno kaakano mwatulire Mukama Katonda wa bajjajjammwe ebibi byammwe, era mukole ekyo ky'asiima. Mweyawule ku b'amawanga amalala abali mu nsi eno, ne ku bakazi bannamawanga.” Abantu ne baddamu mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Kituufu. Tuteekwa okukola nga bw'ogambye. Naye abantu tuli bangi era n'enkuba etonnya nnyo. Tetuyinza kuyimirira bweru, era omulimu si gwa lunaku lumu oba bbiri, kubanga twasobya nnyo mu nsonga eyo. Kale abakulembeze baffe, beeyimirire ekibiina kyonna. Awo ab'omu bibuga byaffe bonna abaawasa abakazi ab'amawanga amalala, bajje mu kiseera ekiteekeddwawo, nga bali wamu n'abakulembeze era n'abalamuzi aba buli kibuga, Katonda waffe alyoke alekere awo okutusunguwalira ennyo olw'ensonga eyo.” Yonataani mutabani wa Asayeeli, ne Yazeya mutabani wa Tikuva, be bokka abaagaana ekigambo ekyo, era Mesullamu ne Sabbetaayi Omuleevi ne babawagira. Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakkiriza entegeka eyo. Awo Ezera, kabona n'alonda abasajja okuva mu bakulu b'ebika ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, n'awandiika amannya gaabwe. Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'ekkumi, ne batandika okunoonyereza ku nsonga eyo, ne bamaliriza ensonga z'abasajja bonna abaali bawasizza abakazi ab'amawanga amalala, ng'olunaku olusooka mu mwezi ogw'olubereberye terunnayita. Ne mu batabani ba bakabona ne musangibwamu abaali bawasizza abakazi ab'amawanga amalala: Mu batabani ba Yeswa mutabani wa Yehozadaaki ne baganda be, mwalimu Maaseya ne Eliyezeeri, ne Yalibu ne Gedaliya. Abo ne basuubiza okugoba bakazi baabwe, era kubanga omusango gubasinze, ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo kyabwe olw'ekibi kyabwe. Ne ku batabani ba Yimmeri: Hanani ne Zebadiya. Ne ku batabani ba Harimu: Maaseya, ne Eliya, ne Semaaya ne Yehiyeeli ne Wuzziya; ne ku batabani ba Pasuri: Eliyowenayi, Maaseya, Yisimayeli, Netaneeli, Yozabadi ne Elasa. Ne ku Baleevi: Yozabadi, Simeeyi, Kelaya era ayitibwa Kelita, Petahiya, Yuda, ne Eleyezeeri; ne ku bayimbi: Eliyasibu; ne ku baggazi: Sallumu ne Telemu ne Wuli. Ne ku Bayisirayeli abalala: ku batabani ba Palosi: Ramiya, Yizziya, Malukiya, Miyamini, Eleyazaari, Malukiya, ne Benaaya. Ne ku batabani ba Elamu: Mattaniya, Zekariya, Yehiyeeli, Abudi, Yeremooti, ne Eliya; ne ku batabani ba Zattu: Eliyowenayi, Eliyasibu, Mattaniya, Yeremooti, Zabadi ne Aziiza; ne ku batabani ba Bebayi: Yehohanani, Hananiya, Zabbayi, ne Atulaayi; ne ku batabani ba Bani: Mesullamu, Malluki, Adaya, Yasubu, Seyali, ne Yeremooti; ne ku batabani ba Pahati Mowaabu: Aduna, Kelali, Benaaya, Maaseya, Mattaniya, Bazaleeri, Binnuyi ne Manasse; ne ku batabani ba Halimu: Eliyezeeri, Yissiya, Malukiya, Semaaya, Simyoni, Benyamiini, Malluki ne Samariya; ne ku batabani ba Hasumu: Mattenayi, Mattatta, Zabadi, Elifeleti, Yeremaayi, Manasse ne Simeeyi; ne ku batabani ba Bani: Maadayi, Amuraamu, Wuweli, Benaaya, Bedeya, Keluhi, Vaniya, Meremooti, Eliyasibu, Mattaniya, Mattenaayi ne Yaasu, ne Bani, ne Binnuyi, Simeeyi, Selemiya, Natani, Adaya, Makunadebayi, Sasayi, Saraayi Azareeli, Selemiya, Semariya Sallumu, Amariya ne Yosafu; ne ku batabani ba Nebo: Yeyeli, Matisiya, Zabadi, Zebina, Yaddayi, Yoweeli ne Benaaya. Abo bonna baali bawasizza abakazi ab'amawanga amalala, era nga n'abamu babazaddemu abaana. Bino bye bigambo bya Nehemiya, mutabani wa Hakaliya. Mu mwezi gwa Kisuleevu, mu mwaka ogw'amakumi abiri, ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzeesi, nze Nehemiya bwe nali mu kibuga ekikulu Susa, Hanani, omu ku baganda bange, n'ajja n'abantu abalala okuva mu Buyudaaya. Ne mbabuuza ebifa mu Yerusaalemu, ne ku Bayudaaya bannaffe abaddayo okuva mu buwaŋŋanguse. Ne baŋŋamba nti: “Abo abaddayo mu kitundu ekyo nga bava mu buwaŋŋanguse, banakuwavu nnyo, era bawulira okuswala, kubanga ebisenge bya Yerusaalemu bimenyeddwa era n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro.” Bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne mmala ennaku eziwerako nga nkungubaga, era nga sirya mmere, era ne nsinza Katonda w'Eggulu. Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, Katonda w'Eggulu, oli mukulu era oli wa ntiisa! Okuuma endagaano yo, era oba n'okwagala okutakoma eri abo abakwagala, era abakola by'olagira. Tunula era otege okutu owulire essaala yange, nze omuweereza wo, nga nkwegayirira emisana n'ekiro olw'abantu bo Abayisirayeli. Njatula nti ffe Abayisirayeli twayonoona. Twakukolera ebitatuuse, tetwakwata bye walagira, wadde amateeka ge watuwa ng'ogayisa mu muweereza wo Musa. Jjukira kye walagira omuweereza wo Musa nti: ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, nnaabasaasaanyizanga mu mawanga. Naye bwe munaakyukanga ne mudda gye ndi, ne mukola bye mbalagira, nnaabakomyangawo okuva yonna gye munaabanga musaasaanidde mu nsi, ne mbateeka mu kifo kye nalonda okunsinzizangamu.’ Bano be bantu bo era abaweereza bo, be wanunuza obuyinza bwo obungi era n'amaanyi. Kaakano, Ayi Mukama, tega okutu owulire okwegayirira kwange, n'okw'abaweereza bo abalala abakussaamu ekitiibwa. Ompe omukisa olwaleero, omusajja ono ankwatirwe ekisa.” Mu nnaku ezo nali musenero wa kabaka. Awo mu mwezi gwa Nisani, mu mwaka ogw'amakumi abiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzeesi, ne mpeereza kabaka omwenge ogwali mu maaso ge. Kabaka yali tandabangako nga ndi munakuwavu. Kyeyava ambuuza nti: “Lwaki oli munakuwavu? Toli mulwadde, wabula olina obuyinike mu mutima gwo.” Natya nnyo era ne ŋŋamba kabaka nti: “Ayi kabaka, wangaala! Nnyinza ntya obutanakuwala ng'ekibuga omuli ebiggya bya bajjajjange kizise, nga n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro?” Kabaka n'anziramu nti: “Kati osaba ki?” Awo ne neegayirira Katonda w'Eggulu. Ne ŋŋamba kabaka nti: “Ayi Ssaabasajja, bw'oba ng'osiimye, era ng'okkirizza okumpa kye nsaba, nzikiriza ŋŋende mu Buyudaaya, mu kibuga omuli ebiggya bya bajjajjange, nkizimbe buggya.” Awo kabaka, ng'atudde wamu ne Nnaabagereka, n'ambuuza nti: “Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? Era olidda ddi?” Ne mmulaga ekiseera, n'akkiriza okuntuma. Era ne mmusaba ampe ebbaluwa ez'okutwalira abafuzi b'ekitundu eky'emitala w'omugga, balyoke banzikirize okuyitawo okutuuka mu Buyudaaya. Era ne nsaba n'ebbaluwa ey'okutwalira Asafu, akuuma ekibira kya kabaka, emulagira okumpa emiti egy'okuggyamu embaawo ez'enzigi z'ekisenge ekyetoolodde Essinzizo, n'ez'ekisenge ekyetoolodde ekibuga, era n'ez'ennyumba gye ndisulamu. Kabaka n'ampa bye namusaba, kubanga Katonda wange yali wamu nange. Awo kabaka n'atuma abakulu mu magye n'ekibinja ky'abeebagazi b'embalaasi okugenda nange. Ne ntuuka eri abafuzi abali emitala w'omugga, ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Naye Sanuballati Omuhoroni ne Tobiya omuweereza we Omwammoni, bwe baawulira nti waliwo omuntu azze okuyamba Abayisirayeli, ne banyiiga nnyo. Awo ne ntuuka e Yerusaalemu, ne mmalayo ennaku ssatu. Oluvannyuma ne ngolokoka ekiro, nga ndi wamu n'abasajja batonotono, nga sirina gwe mbuulidde kindi ku mutima, Katonda kye yaŋŋamba okukolera Yerusaalemu. Ensolo yokka gye nalina, ye nsolo gye nali neebagadde. Ne nfulumira mu Mulyango ogw'omu Kiwonvu, nga bukyali kiro, ne njolekera Oluzzi olw'Ogusota, n'Omulyango gw'Ebisasiro. Ne neetegereza ebisenge bya Yerusaalemu ebyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo egyayokebwa omuliro. Ne neeyongerayo, ne ntuuka ku Mulyango gw'Oluzzi, ne ku Kidiba kya Kabaka. Naye eyo nga teri kkubo mwe nnyinza kuyisa nsolo gye nali neebagadde. Ne nvaayo nga bukyali kiro, ne mpita mu kiwonvu, nga bwe neetegereza ebisenge, ne nzirayo mu kibuga, nga mpita mu Mulyango gw'Ekiwonvu. Abakulembeze tebaamanya gye nali ndaze, wadde kye nakola. Era nali sirina kye nnaabulidde Bayudaaya bannange, bakabona oba abakungu, oba abakulembeze, wadde abalala bonna abaali ab'okukola omulimu. Awo ne ndyoka mbagamba nti: “Mulaba akabi ke tulimu: Yerusaalemu kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro. Mujje tuzimbe ebisenge by'ekibuga, tuleme kuddamu kuswala.” Ne mbategeeza nga Katonda bwe yankolera eby'ekisa, era n'ebyo kabaka bye yaŋŋamba. Awo ne baddamu nti: “Tusituke tuzimbe.” Awo ne beetegeka okutandika omulimu ogwo omulungi. Kyokka Sanuballati Omuhoroni ne Tobiya omuweereza we Omwammoni, ne Gesemu Omuwarabu, bwe baawulira kye tutegeka okukola, ne batusekerera. Ne batugaya nga bagamba nti: “Mukola ki ekyo? Mwagala kujeemera kabaka?” Nange ne mbaddamu nti: “Katonda w'Eggulu ajja kutuwa omukisa. N'olwekyo ffe abaweereza be, tujja kusituka tuzimbe. Naye mmwe, temulina mugabo na bwannannyini, wadde ekijjukizo mu Yerusaalemu.” Awo Eliyasibu Ssaabakabona, wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba Omulyango gw'Endiga, ne bagutukuza, era ne baguteekamu enzigi. Ne batukuza ekisenge okutuukira ddala ku munaala gw'Ekikumi, n'ogwa Hananeeli. Abasajja b'e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddako, ate Zakkuri mutabani wa Yimuri, n'azimba ekitundu ekiddako. Batabani ba Hassenaa ne bazimba Omulyango gw'Ebyennyanja, ne baguteekamu emyango n'enzigi zaamu, n'ebizisiba. Meremooti mutabani wa Wuriya era muzzukulu wa Hakkozi, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako. Oyo n'addirirwa Mesullamu, mutabani wa Berekiya, era muzzukulu wa Mesezabeli. Abo ne baddirirwa Zaddooki, mutabani wa Baana, okuddaabiriza. Abasajja b'e Tekowa ne baddako mu kuddaabiriza, kyokka abakungu baabwe ne bagaana okukola omulimu ogwabaweebwa mukama waabwe. Yoyaada mutabani wa Paseya, ne Mesullamu mutabani wa Besodeeya, ne baddaabiriza Omulyango ogw'Edda. Ne baguteekamu emyango n'enzigi zaamu, n'ebisiba. Awo Melatiya Omugibiyoni ne Yadoni Omumeronooti, n'abasajja ab'e Gibiyoni ne Mizupa, abafugibwa omufuzi omukulu ow'emitala w'omugga, be baddako mu kuddaabiriza. Wuzziyeeli mutabani wa Harukaya, omu ku baweesi ba zaabu, ye yaddako mu kuddaabiriza. Oyo n'addirirwa Ananiya omukozi w'eby'obuwoowo. Ne banyweza Yerusaalemu okutuuka ku Kisenge Ekigazi. Okwo ne kuddako Refaaya, mutabani wa Huuri, omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Yerusaalemu. Oyo yaddirirwa Yedaaya mutabani wa Harumafu, eyaddaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye. Hattusi mutabani wa Hasabuneya ye yaddako mu kuddaabiriza. Malukiya mutabani wa Harimu, ne Hassubu mutabani wa Pahati Mowaabu, ne baddaabiriza ekitundu ekyaddako, n'omunaala ogw'Ebyoto. Abo ne baddirirwa Sallumu mutabani wa Hallohesi omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri ekirala ekya Yerusaalemu. Sallumu omulimu yagukola ne bawala be. Hanuni n'abatuuze b'e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango gw'Ekiwonvu. Ne baguzimba buggya, ne baguteekamu emyango n'enzigi zaamu n'ebizisiba. Era ne baddaabiriza ekitundu ky'ekisenge kya mikono ebikumi bitaano okutuuka ku Mulyango gw'Ebisasiro. Malukiya mutabani wa Rekabu omufuzi w'e Beti Hakkeremu, n'addaabiriza Omulyango gw'Ebisasiro, n'aguzimba buggya n'aguteekamu enzigi n'ebisiba. Sallumu mutabani wa Koluhoze omufuzi we Mizupa, n'addaabiriza Omulyango gw'Oluzzi. N'aguzimba buggya, n'agusereka era n'agussaamu enzigi n'ebisiba. Era n'azimba ekisenge eky'oku kidiba kya Seela ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuukira ddala ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi. Nehemiya mutabani wa Azibuku omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'e Betizuuri, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako okutuukira ddala ku masiro ga Dawudi, ne ku kidiba ekisime, ne ku nsiisira z'abasajja ab'amaanyi. Abaleevi be baddirira Nehemiya okuddaabiriza: Rehumu mutabani wa Bani ye yasooka, n'addirirwa Hasabiya omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'e Keyila. Ono ye yaddaabiriza ku lw'ekitundu kye. Baganda baabwe nga bakulemberwa Bavvayi mutabani wa Henadaadi omufuzi w'ekitundu ekimu ekyokubiri ekirala eky'e Keyila. Ne kuddako Ezeri mutabani wa Yeswa omufuzi w'e Mizupa. Ono yaddaabiriza ekitundu ekitunudde awaterekebwa ebyokulwanyisa, okutuukira ddala ku nsonda y'ekisenge. Baruku mutabani wa Zabbayi ye yaddako, n'addaabiriza ekitundu ekirala okuva ku nsonda y'ekisenge okutuuka ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu Ssaabakabona. Ne kuddako Meremooti mutabani wa Wuriya, era muzzukulu wa Hakkozi, eyaddaabiriza ekitundu okuva ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba eyo. Bakabona, abasajja ab'omu lusenyi, be baddirira Meremooti okuddaabiriza. Benyamiini ne Hassubu be baddako, ne baddaabiriza ekitundu ekiri mu maaso g'ennyumba zaabwe. Ne kuddako Azariya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya. Ono n'addaabiriza ekitundu ekiriraanye ennyumba ye. Ne kuddako Binnuyi mutabani wa Henadaadi, n'addaabiriza okuva ku nnyumba ya Azariya okutuuka ekisenge we kiwetera. Awo Palali mutabani wa Wuzayi n'addaabiriza ekitundu okwolekera ekisenge we kiwetera, n'omunaala gw'ennyumba ya kabaka eya kalinaabiri, okumpi n'ennyumba y'abakuumi. Ne kuddako Pedaaya mutabani wa Parosi, n'abaweereza b'omu Ssinzizo abaabeeranga mu kitundu ekiyitibwa Ofeli. Ne baddaabiriza okutuuka mu kifo ekitunudde mu Mulyango gw'Amazzi mu buvanjuba, ne ku munaala omuwanvu. Awo ab'e Tekowa ne baddako. Ne baddaabiriza ekitundu ekitunudde mu munaala omunene omuwanvu okutuuka ku kisenge kya Ofeli. Bakabona ne baddako nga batandikira ku Mulyango gw'Embalaasi, nga buli omu addaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye. Bakabona baddirirwa Zaddooki mutabani wa Yimmeri. Zaddooki n'addaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye. Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w'Omulyango gw'Ebuvanjuba, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako. Oyo n'addirirwa Hananiya mutabani wa Selemiya ne Hanuni, omwana ow'omukaaga owa Zaalaafu. Ekyo kye kyali ekitundu kyabwe ekyokubiri kye baddaabiriza. Mesullamu mutabani wa Berekiya n'addaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba ye. Malukiya, omu ku baweesi ba zaabu, n'addaabiriza ekitundu ekyaddako okutuuka ku nnyumba y'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'ey'abasuubuzi, ezitunudde mu Mulyango gwa Mifukaadi okumpi n'omunaala ogw'omu nsonda y'ekisenge. Abaweesi ba zaabu n'abasuubuzi ne baddaabiriza okuva ku munaala ogw'omu nsonda okutuuka ku Mulyango gw'Endiga. Naye Sanuballati bwe yawulira nti tuzimba ekisenge, n'asunguwala nnyo, n'abaako ekiruyi kingi era n'akudaalira Abayudaaya. Awo n'ayogerera mu maaso ga baganda be n'ab'eggye lya Samariya nti: “Abayudaaya abo abateesobola bakola ki? Baneezimbirawo ekigo? Banaawaayo ebitambiro? Omulimu banaagumala mu lunaku lumu? Amayinja agoonooneddwa omuliro, ge baggya mu ntuumu z'ebisasiro, banaasobola okugafuula amalamu?” Tobiya Omwammoni eyamuli ku lusegere n'agamba nti: “Ekyo ekisenge kyabwe eky'amayinja kye bazimba, n'ekibe bwe kikiyimirirako, kikisuula wansi!” Ne neegayirira nti: “Ayi Katonda waffe, wulira bwe batunyooma! Kale nno kkiriza ebivumo byabwe bibaddire, banyagibweko ebintu byabwe, era batwalibwe mu nsi endala nga basibe. Tobasonyiwa kwonoona kwabwe era teweerabira kibi kyabwe, kubanga bakusunguwalizza mu maaso g'abazimbi.” Tweyongera okuzimba ekisenge, ne tukyetoolooza wonna, ate okugenda waggulu ne tukituusa mu makkati mu kiseera kitono, kubanga abantu baali bakola baagala. Kyokka Sanuballati, ne Tobiya, n'Abawarabu, n'Abammoni, n'Abasudoodi bwe baawulira nti omulimu gw'okuzimba ekisenge kya Yerusaalemu gugenda mu maaso era nga n'ebituli bitandise okuzibibwa, ne basunguwala nnyo, era ne bakkaanya bonna wamu okulumba ekibuga Yerusaalemu okukirwanyisa n'okukitabangula, naye ne tusaba Katonda waffe era ne tussaawo abakuumi okuziyiza abalabe abo emisana n'ekiro. Awo abantu b'omu Buyudaaya ne batandika okugamba nti: “Abasitula obuzito amaanyi gabakendedde, ebisasiro bikyetuumye! Kale tetukyayinza kuzimba kisenge kati!” Era abalabe baffe baalowooza nti tetujja kumanya kye bateesezza, wadde okubalaba nga bajja, okutuusa nga batuguddeko ne batutta, n'omulimu gw'okuzimba ne gukoma. Abayudaaya abaabeeranga okumpi nabo, bwe bajja, ne batubuulira emirundi n'emirundi nti: “Bajja kuva mu bifo byonna gye babeera, bajje batulumbe” Kyennava nteeka abantu emabega w'ekisenge buli awaali watannaggwa, nga batereezeddwa mu bika byabwe, era nga balina ebitala n'amafumu n'emitego gy'obusaale. Ne ndaba abantu nga beeraliikiridde. Kyennava ŋŋamba abakulembeze baabwe n'abakungu, n'abantu bonna nti: “Muleme kutya balabe baffe. Mujjukire nti Mukama mukulu, era wa ntiisa! Mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe ne bawala bammwe, ne bakazi bammwe, era n'ennyumba zammwe.” Abalabe baffe ne bamanya ng'olukwe lwabwe tulutegedde, era nga Katonda alemesezza enteekateeka zaabwe. Awo ffenna ne tulyoka tudda ku mulimu gw'okuzimba ekisenge. Okuva olwo abantu bange, kimu kyakubiri, be baazimbanga ekisenge, ate kimu kyakubiri, ne bambalanga ebyambalo eby'ekyuma, ne bakwata amafumu n'engabo, n'emitego gy'obusaale. Abakulembeze ne bawagira abantu ba Buyudaaya bonna. Abo abaazimbanga ekisenge era n'abo abeetikkanga eby'okuzimbisa, baakozesanga omukono gumu, ate omulala nga gukutte ekyokulwanyisa. Era buli muzimbi yazimbanga yeesibye ekitala mu kiwato. Ate omusajja eyafuuwanga eŋŋombe, yambeeranga ku lusegere. Awo ne ŋŋamba abakungu n'abakulembeze n'abalala nti: “Omulimu munene era mugazi, naffe twesudde amabanga manene okuva ku buli muntu, ng'omu ali wala ne munne. Kale bwe muwuliranga eŋŋombe wonna gye muli, mwanguwanga okujja gye ndi. Katonda waffe ajja kutulwanirira.” Bwe tutyo ne tukolanga omulimu, ng'abasajja bange, kimu kyakubiri bakutte amafumu okuva ku makya okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga ekiro. Mu kiseera ekyo, era ne ŋŋamba abantu nti: “Buli muntu wamu n'omuweereza we, asigale mu Yerusaalemu, batukuume ekiro, era bakole omulimu emisana.” Awo nze ne baganda bange, n'abaweereza bange, n'abasajja abakuumi abaabeeranga nange, tetwayambulangamu byambalo byaffe, buli muntu yagendanga akutte ekyokulwanyisa kye. Awo ne wabaawo abasajja ne bakazi baabwe abeemulugunyiza Bayudaaya bannaabwe. Abamu ne bagamba nti: “Ffe ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi. Tufune eŋŋaano, tulyenga tube balamu.” Abalala ne bagamba nti: “Olw'enjala, tusingayo ebibanja byaffe n'ennimiro zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe okufuna eŋŋaano.” N'abalala ne bagamba nti: “Twewola ensimbi okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez'emizabbibu. Tuli ba musaayi gumu ne Bayudaaya bannaffe abo, abaana baffe bali ng'abaana baabwe. Kyokka batabani baffe ne bawala baffe tubawaayo okuba abaddu n'abazaana. Era abamu ku bawala baffe bamaze okuweebwayo mu buddu. Tetukyesobola, kubanga ebibanja byaffe n'ennimiro zaffe ez'emizabbibu birina balala.” Bwe nawulira ebyo bye bagamba nga beemulugunya, ne nsunguwala nnyo. Awo ne nneebuuza mu mutima gwange eky'okukola. Ne nnyombesa abakulembeze n'abakungu b'abantu, ne mbagamba nti: “Muliika baganda bammwe amagoba!” Awo ne nkuba olukuŋŋaana lunene okubavunaana. Ne mbagamba nti: “Tukoze kye tusobola okununula Bayudaaya bannaffe abaatundibwa mu b'amawanga amalala. Kaakano nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, ffe tulyoke tubagule?” Abakulembeze ne basirika busirisi, ne batabaako kye boogera. Awo ne ŋŋamba nti: “Kye mukola si kirungi. Musaanidde okutya Katonda waffe, ne mutatuvumisa balabe baffe ab'amawanga amalala. Nange mbadde mpola abantu ssente n'eŋŋaano, era nga ne baganda bange n'abaweereza bange nabo bakikola. Kati mbeegayiridde, tubasonyiwe amagoba ago. Mbeegayiridde mubaddize olwaleero ebibanja byabwe n'ennimiro zaabwe ez'emizabbibu, n'ez'emizayiti era n'amayumba gaabwe. Mubasonyiwe amabanja gonna ge mubabanja: aga ssente, n'ag'eŋŋaano, ag'omwenge ogw'emizabbibu n'ag'omuzigo ogw'emizayiti.” Awo abakulembeze ne baddamu nti: “Tujja kukola nga bw'otugambye. Tujja kubaddiza ebintu byabwe byonna, era tubasonyiwe n'amabanja gonna ge tubabanja.” Ne mpita bakabona, ne ndayiza abakulembeze n'abakungu okukola nga bwe basuubizza. Awo ne nkunkumula ekiwuzi kye nneesiba mu kiwato, ne ŋŋamba nti: “Bw'ati Katonda bw'alikunkumula omuntu atakuuma ky'asuubizza, n'amuggya mu nnyumba ye, ne ku mulimu gwe. Omuntu oyo bw'atyo bw'aba akunkumulwa mu ebyo, aggyirwemu ddala.” Ekibiina kyonna ne kigamba nti: “Kibe bwe kityo!” Ne batendereza Mukama. Abantu ne batuukiriza kye baasuubiza. Mu myaka gyonna ekkumi n'ebiri gye namala nga nfuga Buyudaaya, okuva mu mwaka ogw'amakumi abiri nga Arutazeruzeesi ye kabaka, okutuuka mu mwaka gwe ogw'amakumi asatu mu ebiri, nze wadde baganda bange, tewali yalya ku mmere eyaalibadde eweebwa omufuzi. Abafuzi abansooka, baatulugunyanga abantu nga babaggyako emmere n'omwenge gw'emizabbibu n'ensimbi amakumi ana eza ffeeza. Era n'abaweereza baabwe, nabo baatulugunyanga abantu. Naye nze si bwe nakolanga, kubanga nali nzisaamu Katonda ekitiibwa. Nze nanyiikiriranga kukola mulimu gwa kuzimba kisenge kino, ne tuteegulira ttaka. N'abaweereza bange bonna ne beemalira mu kukola mulimu. Ku mmeeza yange naliisanga abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya, n'abakulembeze, wamu n'abantu abalala abajja gye tuli nga bava mu mawanga agatwetoolodde. Buli lunaku banteekerateekeranga ente emu, n'endiga mukaaga ensava, n'enkoko era buli nnaku kkumi, omwenge mungi ogwa buli ngeri. Wadde ng'ebyo byali bwe bityo, kyokka namanya ebizibu ebinene abantu bye baalina, ne sibasaliranga mmere gye banditeekeddwa okuwa omufuzi. Ayi Katonda wange, jjukira byonna bye nkoledde abantu bano, onsasulemu ebirungi. Awo Sanuballati ne Tobiya ne Gesemu Omuwarabu n'abalabe baffe abalala bonna, ne bamanya nga mmalirizza okuzimba ekisenge, era nga temuli bituli bisigaddemu, newaakubadde nga nali sinnassa nzigi mu miryango. Sanuballati ne Gesemu ne bantumira nga bagamba nti: “Jjangu tusisinkane mu kimu ku byalo by'omu lusenyi lwa Ono.” Naye nga kye bagenderera kwe kunkolako akabi. Ne mbatumira ababaka nga ŋŋamba nti: “Sisobola kujja, kubanga omulimu gwe ndiko munene. Kaakano ndekewo omulimu, guyimirire, ndyoke nzije eyo gye muli?” Ne bantumira bwe batyo emirundi ena, nange nga mbaddamu bwe ntyo. Awo Sanuballati n'antumira omuweereza we mu ngeri ye emu omulundi ogwokutaano ng'aleetedde mu mukono gwe ebbaluwa eteri nsibe. Mu bbaluwa eyo yawandiika nti: “Gesemu ambuulidde nti waliwo oluvuuvuumo mu bantu abatwetoolodde nti ggwe n'Abayudaaya muteekateeka okujeema, kye kikuzimbisa ekisenge. Era agambye nti oyagala okuba kabaka waabwe, era otaddewo n'abalanzi abanaabuulira abantu ebigambo byo mu Yerusaalemu nti: ‘Mu Buyudaaya mulimu kabaka.’ Kale kabaka taaleme kubuulirwa bigambo ebyo. N'olwekyo jjangu, tubyogereko.” Ne mmutumira nti: “Byonna by'ogamba tebibeerangawo, ggwe obyeyiiyirizza ku bubwo.” Kubanga bonna baali baagala kututiisa nga balowooza nti tujja kuva ku mulimu guleme kukolebwa. Kyokka kaakano, ayi Katonda onnyongere amaanyi. Awo ne ŋŋenda ewa Semaaya mutabani wa Delaaya era muzzukulu wa Meketabeli eyali tasobola kuva mu nnyumba ye. N'aŋŋamba nti: “Tugende twekweke mu kifo Ekitukuvu eky'omu Ssinzizo, twesibiremu kubanga bagenda kujja kukutta. Ddala ekiro banajja okukutta.” Ne mmuddamu nti: “Omusajja nga nze nnyinza ntya okudduka ne nneekweka? Era nnyinza ntya okuyingira mu Ssinzizo okuwonyezaamu obulamu bwange? Sijja kukikola.” Ne mmanya era ne ntegeera nga Katonda si ye yatuma Semaaya okwogera ebyo, wabula nga yeeyogeza eby'obulanzi ebyo, kubanga Tobiya ne Sanuballati be baali bamuguliridde. Baamugulirira antiisetiise nkole bwe ntyo ngwe mu kibi, balyoke banjogereko obubi, banswazeswaze. Ayi Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanuballati kye bakoze. Era jjukira n'omulanzi omukazi Nowadiya n'abalanzi abalala abagezezzaako okuntiisa. Awo ne tumaliriza okuzimba ekisenge ku lunaku olw'amakumi abiri mw'ettaano mu mwezi ogwa Eluuli. Omulimu ogwo gwakolebwa mu nnaku amakumi ataano mu bbiri. Abalabe baffe bonna bwe baawulira, n'ab'amawanga gonna agatwetoolodde bwe baalaba ebyo, ne baggweeramu ddala amaanyi, kubanga baamanya ng'omulimu ogwo gwakolebwa, nga Katonda waffe ye atubedde. Mu biseera ebyo abakungu b'omu Buyudaaya baaweerezanga Tobiya ebbaluwa nnyingi era ne Tobiya ng'abaddamu. Mu Buyudaaya mwalimu abantu bangi abaali ku ludda lwe, kubanga Sekaniya mutabani wa Ara ye yali kitaawe wa mukazi we. Ate ne mutabani we Yehohanani yali awasizza muwala wa Mesullamu, mutabani wa Berekiya. Abantu baayogereranga we ndi ebirungi Tobiya by'akola, ate ne bamubuuliranga bye njogedde. Tobiya n'ampandiikiranga ebbaluwa ezintiisatiisa. Awo olwatuuka ekisenge bwe kyaggwa okuzimba, era nga mmaze okuteekamu enzigi, era ng'abaggazi, n'abayimbi, era n'Abaleevi balondeddwa, ne nteekawo muganda wange Hanani, ne Hananiya omufuzi w'ekigo eky'okwerinda okulabiriranga Yerusaalemu. Hananiya oyo yali mwesigwa, era nga mu kutya Katonda tewali amwenkana. Ne mbagamba nti: “Emiryango gya Yerusaalemu tegiggulwangawo ng'akasana tekannabaaluuka, era bagiggalenga, gisibwe ng'abakuumi bakyakuuma. Era muteekeewo abakuumi okuva mu batuuze b'omu Yerusaalemu, bakuume mu mpalo zaabwe, era buli mukuumi akuume ekitundu ennyumba ye mw'etunudde.” Yerusaalemu kyali kibuga kinene, naye mwalimu abantu batono era nga n'ennyumba ezizimbiddwa si nnyingi. Katonda n'anteekamu ekirowoozo eky'okukuŋŋaanya abakungu, n'abakulembeze b'abantu, n'abantu abalala babalibwe mu maka mwe bazaalibwa. Ne nzuula ekitabo eky'obuzaale bw'abo abaasooka okuva mu buwaŋŋanguse nga bawandiikiddwamu bwe bati: Bano be bantu abaava mu kitundu ky'e Babilooni abaakomawo e Yerusaalemu ne mu Buyudaaya buli muntu ng'adda mu kibuga ky'ewaabwe. Abantu bano Kabaka Nebukadunezzari yali abatutte e Babilooni nga basibe. Abakulu baabwe baali Zerubabbeeli, Yeswa, Nehemiya, Azariya, Raamiya, Nahamani, Moruddekaayi, Bilisani, Misupereti, Biguvaayi, Nehumu ne Baana. Guno gwe muwendo gw'abasajja Abayisirayeli: Ab'ezzadde lya Parosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri. Ab'ezzadde lya Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri. Ab'ezzadde lya Ara, lukaaga mu ataano mu babiri. Ab'ezzadde lya Pahati Mowaabu, bazzukulu ba Yeswa ne Yowaabu, enkumi bbiri, mu lunaana mu kkumi na munaana. Ab'ezzadde lya Elamu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana. Ab'ezzadde lya Zattu, lunaana mu ana mu bataano. Ab'ezzadde lya Zakkayi, lusanvu mu nkaaga. Ab'ezzadde lya Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana. Ab'ezzadde lya Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana. Ab'ezzadde lya Azugaadi, enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri. Ab'ezzadde lya Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu. Ab'ezzadde lya Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu. Ab'ezzadde lya Adini, lukaaga mu ataano mu bataano. Ab'ezzadde lya Ateri era gwe bayita Heezeekiya, kyenda mu munaana. Ab'ezzadde lya Hasumu, bisatu mu abiri mu munaana. Ab'ezzadde lya Bezayi, bisatu mu abiri mu bana. Ab'ezzadde lya Halifu, kikumi mu kkumi na babiri. Ab'ezzadde lya Gibiyoni, kyenda mu bataano. Abasajja abasibuka mu Betilehemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana. Abasajja abasibuka mu Anatooti, kikumi mu abiri mu munaana. Abasajja abasibuka mu Beti-Azumaveti, amakumi ana mu babiri. Abasajja abasibuka mu Kiriyati-Yeyariimu, Kefira ne Beroti, lusanvu mu ana mu basatu. Abasajja abasibuka mu Raama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu. Abasajja abasibuka mu Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri. Abasajja abasibuka mu Beteli ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu. Abasajja abasibuka mu Nebo ekirala, amakumi ataano mu babiri. Ab'ezzadde lya Elamu omulala, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana. Ab'ezzadde lya Arimu, ebikumi bisatu mu amakumi abiri. Ab'ezzadde lya Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano. Ab'ezzadde lya Loodi, ne Hadidi ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu. Ab'ezzadde lya Ssena, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu. Bakabona: ab'ezzadde lya Yedaaya, bazzukulu ba Yeswa, lwenda mu nsanvu mu basatu. Ab'ezzadde lya Yimmeri, lukumi mu ataano mu babiri. Ab'ezzadde lya Pasuhuuri, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu. Ab'ezzadde lya Harimu, lukumi mu kkumi na musanvu. Ab'ennyumba z'Abaleevi abaava mu buwaŋŋanguse be bano: Ab'ezzadde lya Yeswa ne Kadumyeli abasibuka mu Hodeva, nsanvu mu bana. Abayimbi ab'ezzadde lya Asafu, kikumi mu ana mu munaana. Abaggazi ab'ezzadde lya Sallumu, n'erya Ateri, n'erya Talumooni, n'erya Akkubu, n'erya Atita, n'erya Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana. Abaweereza b'omu Ssinzizo ab'ezzadde lya Ziha, n'erya Asufa, n'erya Tabbawooti; ab'ezzadde lya Kerosi, n'erya Siya, n'erya Padoni; ab'ezzadde lya Lebana n'erya Hagaba, n'erya Salumayi; ab'ezzadde lya Hanani, n'erya Giddeli, n'erya Gahari; ab'ezzadde lya Reyaaya, n'erya Rezini, n'erya Nekoda ab'ezzadde lya Gazzamu, n'erya Wuzza, n'erya Paseya; ab'ezzadde lya Besayi, n'erya Mewuniimu, n'erya Nefusesimu; ab'ezzadde lya Bakubuki, n'erya Akufa, n'erya Arukuri; ab'ezzadde lya Bazuliti, n'erya Mekida, n'erya Arusa; ab'ezzadde lya Barukosi, n'erya Sisera, n'erya Tema; ab'ezzadde lya Neziya n'erya Atiifa. Ab'ezzadde ly'abaweereza ba Solomooni: ab'ezzadde lya Sotayi, n'erya Sofereti, n'erya Perida; ab'ezzadde lya Yaala, n'erya Darukoni, n'erya Giddeli; ab'ezzadde lya Sefatiya, n'erya Attili, n'erya Pokereti Azebayimu, n'erya Amoni. Ab'ezzadde ly'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'ery'abaweereza ba Solomooni bonna awamu, baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri. Bano be baava mu bibuga Telumela, Teluharusa, Kerubu, Addoni ne Yimmeri, kyokka nga tebayinza kulaga nnyumba za bajjajjaabwe mwe basibuka, wadde obuzaale bwabwe nti Bayisirayeli: ab'ezzadde lya Delaaya, n'erya Tobiya, n'erya Nekoda, bonna awamu lukaaga mu ana mu babiri. Ne mu bakabona, waaliwo ab'ezzadde lya Hobaya, n'erya Hakkozi, n'erya Baruzillayi, eyawasa omu ku bawala ba Baluzillayi Omugileyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe. Abo ne banoonya we baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale naye ne watalabika, kye baava baboolebwa mu bwakabona nti si balongoofu. Omufuzi n'abagaana okulya ku mmere entukuvu ennyo, okutuusa nga bafunye kabona asobola okukozesa Wurimu ne Tummimu. Bonna awamu abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga, nga tobaliddeeko baddu baabwe na bazaana baabwe abaali akasanvu mu ebisatu mu asatu mu musanvu. Era baalina abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu bataano abasajja n'abakazi. Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga, ennyumbu zaabwe zaali ebikumi bibiri mu ana mu ttaano. Eŋŋamiya zaabwe zaali ebikumi bina mu asatu mu ttaano, endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri. Awo abamu ku bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne bawaayo eby'okukola omulimu. Omufuzi n'awaayo mu ggwanika ensimbi kilo munaana eza zaabu, n'ebbenseni amakumi ataano, n'ebyambalo ebikumi bitaano mu asatu, ebya bakabona. Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne bawaayo mu ggwanika ensimbi kilo kikumi mu nkaaga mu munaana eza zaabu, ne kilo lukumi mu bibiri mu ataano eza ffeeza. Abantu abalala ne bawaayo ensimbi, kilo kikumi mu nkaaga mu munaana eza zaabu, ne kilo kikumi mu ana ffeeza, n'ebyambalo nkaaga mu musanvu ebya bakabona. Bwe batyo bakabona n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abamu ku bantu abaabulijjo, n'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'Abayisirayeli bonna, ne babeeranga mu bibuga byabwe. Omwezi ogw'omusanvu okutuuka, Abayisirayeli nga bali mu bibuga byabwe. Awo Abayisirayeli bonna ng'omuntu omu, ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemu, mu kibangirizi ekiri mu maaso g'Omulyango gw'Amazzi. Ezera omunnyonnyozi w'amateeka ne bamugamba aleete Ekitabo ky'Amateeka, Mukama ge yawa Yisirayeli ng'ayita mu Musa. Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, Ezera kabona n'aleeta ekitabo ekyo, mu kifo Abayisirayeli bonna we bakuŋŋaanidde, abasajja n'abakazi n'abaana bonna abasobola okutegeera. N'asoma ebikirimu, ng'atunudde mu kibangirizi ekiri mu maaso g'Omulyango ogw'Amazzi. Yakibasomera okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bonna bateze amatu okuwulira eby'omu kitabo ekyo eky'Amateeka. Awo Ezera omunnyonnyozi w'amateeka n'ayimirira ku kituuti eky'embaawo, ekyakolebwa olw'omulimu ogwo. Era okumpi naye ne wayimirirawo Mattitiya, ne Sema, ne Anaya, ne Wuriya, ne Hilukiya, ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo, ne Pedaaya, ne Misayeli, ne Malukiya, ne Hasumu, ne Hasubaddana, ne Zekariya, ne Mesullamu, ku mukono gwe ogwa kkono. Awo Ezera n'ayanjuluza ekitabo ng'abantu bonna bamulaba bulungi, kubanga yali ayimiridde ku kituuti. Bwe yayanjuluza ekitabo, bonna ne bayimirira. Ezera n'agamba nti: “Mukama Katonda atenderezebwe, kubanga mukulu!” Awo abantu bonna ne baddamu nti: “Weewaawo, weewaawo,” nga bawanika emikono gyabwe. Ne bavuunama ne basinza Mukama, ng'emitwe gyabwe gikoona ku ttaka. Awo abantu ne bayimirira mu bifo byabwe, Yeswa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akubu, ne Sabbetaayi, ne Hodiya, ne Maaseya, ne Kelita, ne Azariya, ne Yozabadi, ne Hanani, ne Pelaya, n'Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka. Ne basoma mu ddoboozi eriwulikika, ebiri mu kitabo ky'Amateeka ga Katonda, nga bannyonnyola amakulu, abantu basobole okutegeera ebisomeddwa. Awo abantu bwe baawulira Amateeka bye galagira okukola, ne bakaaba amaziga. Awo Nehemiya Omufuzi, ne Ezera kabona, era omunnyonnyozi w'Amateeka, n'Abaleevi abaayigirizanga abantu Amateeka, ne bagamba abantu bonna nti: “Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe. N'olwekyo muleme kunakuwala, wadde okukaaba amaziga. Kaakano muddeyo ewammwe, mulye ebyassava, munywe omwenge oguwooma, mugabanyizeeko n'abo abatabirina, kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe. Kale temunakuwala, kubanga essanyu Mukama ly'abawa, ge maanyi gammwe.” Abaleevi ne bagenda nga bawooyawooya abantu, nga bagamba nti: “Mukkakkane, kubanga olunaku luno lutukuvu, temunakuwala.” Awo abantu ne baddayo ewaabwe, ne balya ne banywa nga basanyuka, era ne bagabira ne ku bannaabwe, kubanga baali bategedde ebyali bibasomeddwa. Ku lunaku olwaddirira, abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abantu bonna ne bajja, wamu ne bakabona n'Abaleevi, ne bakuŋŋaanira ewa Ezera omunnyonnyozi w'Amateeka okuyiga eby'omu Mateeka. Mu Mateeka, Mukama ge yawa ng'ayita mu Musa, ne basanga nti Abayisirayeli banaasulanga mu nsiisira mu biseera eby'embaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu. Banaamanyisanga era banaalangiriranga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemu nti: “Mwambuke ku busozi, muleete amatabi g'emizayiti emisimbe n'ag'egy'omu nsiko, n'ag'emiti egy'ebisaka, n'ag'enkindu, n'ag'emiti emiziyivu, muzimbe ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.” Bwe batyo abantu ne bagenda, ne baleeta amatabi ago, ne beezimbira ensiisira, buli omu ku kasolya k'ennyumba ye akabeebeetevu, ne mu luggya lwe, ne mu luggya lw'Essinzizo, ne mu kibangirizi eky'oku Mulyango ogw'Amazzi, n'eky'oku Mulyango gwa Efurayimu. Abantu bonna abaava mu buwaŋŋanguse ne bazimba ensiisira ne bazisulamu. Abayisirayeli ne basanyuka nnyo, kubanga okuva mu biseera bya Yeswa mutabani wa Nuuni, okutuuka ku lunaku olwo, baali tebakirabangako. Buli lunaku, okuva ku lunaku olusooka olw'embaga, okutuuka ku lusembayo, Ezera n'abasomeranga eby'omu kitabo ky'Amateeka ga Katonda. Embaga n'emala ennaku musanvu, ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo olukuŋŋaana olutukuvu, ng'ekiragiro bwe kigamba. Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogwo, Abayisirayeli ne bakuŋŋaana, ne basiiba era ne bambala ebikutiya, nga basaabye n'ettaka ku mitwe gyabwe, okulaga nga bwe banyoleddwa olw'ebibi byabwe. Baali beeyawudde ku b'amawanga amalala, ne bayimirira okwatula ebibi byabwe n'ebya bajjajjaabwe. Nga bayimiridde mu bifo byabwe ne basoma mu kitabo ky'Amateeka ga Mukama Katonda waabwe, okumala essaawa ssatu. Ate essaawa essatu ezaddirira, ne bazimala nga baatula ebibi byabwe, era nga basinza Mukama Katonda waabwe. Awo Yeswa, ne Baani, ne Kadumyeli, ne Sebamiya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani, ne Kenani ne bayimirira ku madaala g'Abaleevi, ne bawanjagira Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi ery'omwanguka. Awo Abaleevi: Yeswa, ne Kadumyeli, ne Baani, ne Asabuneya, ne Serebiya, ne Hodiya, ne Sebaniya, ne Petahiya ne bagamba abantu nti: “Musituke mutendereze Mukama Katonda wammwe, nga mugamba nti: Okuva ddi na ddi erinnya lyo eryekitiibwa erisukkulumye amatendo gonna, ligulumizibwe emirembe gyonna. Ayi Mukama, ggwe Mukama wekka. Ggwe watonda eggulu n'ebiri wa ggulu mu bbanga. Ggwe watonda olukalu n'ennyanja n'ebibirimu byonna, era ggwe obikuuma byonna. Eby'omu ggulu ggwe bisinza. Ggwe Mukama Katonda eyalonda Aburaamu, mu Wuuri eky'Abakaludaaya, n'omutuuma Aburahamu. Walaba omutima gwe, nga mwesigwa gy'oli n'okola naye endagaano. N'omusuubiza okumuwa ensi y'Abakanaani ey'Abahiiti n'Abaamori, ensi y'Abaperezi ey'Abayebusi n'Abagirugaasi ebe ya bazzukulu be. Era n'okituukiriza, kuba oli mutuukirivu. “Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri, n'owulira okukaaba kwabwe ku nnyanja emmyufu. Wakola ebyewuunyo n'ebyamagero ku kabaka w'e Misiri, ku bakungu be bonna ne ku bantu b'omu nsi ye, kubanga wamanya bwe baabonyaabonya bajjajjaffe. Ne weefunira ettutumu erikutenza ne leero. Ennyanja wagitemamu wabiri nga balaba n'agaabwe, ne batambulira awakalu okugiyitamu wakati. Abo abaabawondera n'obakasuka ebuziba, ng'ejjinja erikasukibwa mu mazzi ag'amaanyi. Wabakulembezanga empagi ey'ekire emisana, ekiro n'obakulembezanga empagi ey'omuliro obamulisize ekkubo lye baba bayitamu. Wava mu ggulu n'okka ku lusozi Sinaayi n'oyogera nabo, n'obawa ensala entuufu, Amateeka ag'amazima, ebibuuliriro ebirungi era n'ebiragiro. Wabamanyisa olunaku lwo olwa Sabbaato olutukuvu, n'obawa ebiragiro byo era n'Amateeka go ng'oyita mu Musa omuweereza wo. “Bwe baalumwa enjala, wabawa emmere eyava mu ggulu. Bwe baalumwa ennyonta, n'obawa amazzi agaava mu lwazi. N'obalagira bagende beefuge ensi, gye wabasuubiza okubawa. Wabula bo, bajjajjaffe, beekulumbaza ne bawaganyala, ne bagaana okuwulira ebiragiro byo. Baagaana okukuwulira, era beerabira ebyamagero bye wakola mu bo. Olw'okwekulumbaza kwabwe, bajeema, ne beerondera omukulembeze okubazzaayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe oli Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa. Oli wa kisa, era ojjudde okusaasira. Olwawo okusunguwala, era okwatirwa nnyo ekisa, era tewabalekulira. Wadde beekolera ekifaananyi eky'ennyana ekisaanuuse, ne bagamba nti ye Katonda waabwe, eyabaggya e Misiri, nga bakoze ebivvoola ennyo, naye olw'okusaasira kwo okungi, tewabalekulira nga bali mu ddungu. Tewabaggyaako mpagi ya kire, ebaluŋŋamya emisana, wadde empagi ey'omuliro ebamulisiza ekkubo ekiro, ekkubo lye baba bayitamu. Wabawa omwoyo gwo omulungi okubaluŋŋamya. Tewabaggyaako mannu yo gye baalya, wabawa n'amazzi banywe. Wabalabirira mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, nga tebaliiko kye bajula. Tebaayambala ngoye njulifu, wadde okuzimba ebigere. “Wabawa ensi za bakabaka n'amawanga okuba omugabo gwabwe, ne beefuga ensi ya Sihoni, kabaka we Hesubooni, n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani. Wayaza abaana baabwe ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, n'obatuusa mu nsi gye wagamba bajjajjaabwe okuyingira bagyefuge. Bazzukulu baabwe ne bayingira ne beefuga ensi eyo. Wabawangulira abatuuze baamu Abakanaani. Bo ne bakabaka baabwe n'obassa mu mikono gy'abantu bo babakole nga bwe baagala. Abantu bo baawamba ebibuga ebiriko ebigo, n'ensi engimu, n'ennyumba ezijjudde ebyobugagga, n'enzizi ezisimiddwa, n'ennimiro ez'emizabbibu n'ez'emiti emizayiti, n'ez'emiti mingi nnyo egy'ebibala. Ne balya ne bakkuta, ne basanyukira ebirungi ebingi bye wabawa. “Kyokka ne bagaana okukuwulira ne bakujeemera, ne bava ku Mateeka go. Ne batta abalanzi abaabawabulanga okubakyusa badde gy'oli. Baakolanga ebivvoola ennyo, kyewava obawaayo mu balabe baabwe ne bababonyaabonya. Mu kubonaabona kwabwe baakukaabirira, n'obawulira ng'osinziira mu ggulu. Olw'okusaasira kwo okungi n'obaweereza abanunuzi abaabawonya abalabe baabwe. Naye bwe baafuna emirembe, ne baddamu okwonoona. Era n'obawaayo mu balabe baabwe ne babafuga. Bwe beenenyanga ne bakukaabirira obawonye, n'obawulira ng'osinziira mu ggulu, n'obanunula emirundi mingi olw'ekisa kyo. Wabalabula obakomyewo ku Mateeka go. Naye olw'okwekulumbaza kwabwe, ne batawulira biragiro byo, wabula ne babimenya bumenyi, sso nga mu kubituukiriza, omuntu mw'afunira obulamu. Ne bakubayo amabega, ne bakakanyalira ddala, ne bagaana okuwulira. Wamala emyaka mingi ng'obagumiikiriza, n'obalabulanga ne Mwoyo wo, ayogerera mu balanzi; kyokka ne baziba amatu, kyewava obawaayo mu b'amawanga amalala. Naye olw'ekisa kyo ekingi, tewabazikiriza wadde okubaabulira, kubanga oli Katonda ow'ekisa era omusaasizi. “Kale nno ayi Katonda waffe ggwe omukulu, ow'amaanyi era ow'entiisa, okuuma endagaano, era olina okwagala okutakoma. Okubonaabona kwonna okwatujjira ffe ne bakabaka baffe, n'abakungu baffe, ne bakabona baffe, n'abalanzi baffe, ne bajjajjaffe, n'abantu bo bonna okuviira ddala ku mirembe gya bakabaka ba Assiriya n'okutuusa kati, kuleme kukulabikira ng'akantu akatono. Mu byonna ebyatutuukako, wabeeranga mwenkanya, kubanga wakolanga eby'amazima. Naye ffe twali boonoonyi. Bakabaka baffe n'abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga Mateeka go era tebaawuliranga biragiro byo, wadde okuwabula kwo kwe wabawabulangamu. Baagaana okukyuka, okuva mu bibi byabwe bakuweereze newaakubadde wabawa omukisa, mu bwakabaka bwabwe, ne babeera mu nsi engazi era engimu, ne mu birungi byonna bye wabawa. Kaakano tuli baddu, baddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okubeeramu, n'okulyanga ebibala byamu, n'ebirungi ebirala ebirimu. Ensi eyo ewa amagoba mangi bakabaka be wateekawo okutufuga kubanga twayonoona. Balina obuyinza okukola buli kye baagala ku ffe ne ku magana gaffe. Tulina obuyinike bungi!” “Olw'ebyo byonna, kyetuva tukola endagaano mu buwandiike, abakungu baffe, n'Abaleevi baffe, ne bakabona baffe, ne bagissaako emikono.” Bano be bantu abaateekako emikono: Nehemiya omufuzi, mutabani wa Hakaliya, ne Zeddeekiya, ne Seraya, ne Azariya, ne Yeremiya, ne Pasuhuuri, ne Amariya, ne Malukiya, ne Attusi, ne Sebaniya, ne Malluki, ne Harimu, ne Meremooti, ne Obadiya ne Daniyeli, ne Ginnetoni, ne Baruku ne Mesullamu, ne Abiya, ne Miyamini, ne Maaziya, ne Bilugayi ne Semaaya. Abo be bakabona. Abaleevi abaateekako emikono be bano: Yeswa mutabani wa Azaniya, ne Binnuyi, omu ku baana ba Henadaadi, ne Kadumyeli, ne baganda baabwe: Sebaniya, ne Hodiya ne Kelita, ne Pelaya, ne Hanani, ne Mikka, ne Rehobu, ne Hasabiya, ne Zakkuri, ne Serebiya, ne Sebaniya, ne Hodiya, ne Baani, ne Beninu. Abakulembeze b'abantu era abaateekako emikono be bano: Parosi, ne Pahati Mowaabu ne Elamu, ne Zattu, ne Baani, ne Bunni, ne Azugaadi, ne Bebayi, ne Adoniya, ne Biguvaayi, ne Adini ne Ateri, ne Heezeekiya, ne Azzuri, ne Hodiya, ne Hasumu, ne Bezayi, ne Harifu, ne Anatooti, ne Nebayi, ne Magupiyasi, ne Mesullamu, ne Heziri, ne Mesezabeli, ne Zaddooki, ne Yadduwa, ne Pelatiya, ne Hanani, ne Anaya, ne Hoseya, ne Hananiya, ne Hassubu, ne Hallohesi, ne Piluha, ne Sobeki, ne Rehumu, ne Hasabuna, ne Maaseya ne Ahiya, ne Hanani, ne Anani, ne Malluki, ne Harimu, ne Baana. Abayisirayeli abalala bonna, bakabona, n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abaweereza b'omu Ssinzizo, n'abo bonna abeeyawula ku bantu b'omu nsi eyo ne bagoberera Amateeka ga Katonda, nga bali wamu ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe, na buli muntu eyalina amagezi ag'okumanya n'okutegeera, ne beegatta ku baganda baabwe ne ku bakungu baabwe, ne balayira nti: “Tukolimirwe singa tuligaana okugobereranga Amateeka, Katonda ge yawa ng'agayisa mu muweereza we Musa, era bwe tuligaana okukwatanga, n'okukolanga byonna ebiri mu Mateeka n'ebiragiro, Mukama Katonda waffe bye yateekawo. Tetuufumbizenga bawala baffe mu ba mawanga malala, wadde okuwasiza batabani baffe bawala baabwe. Ab'amawanga amalala bwe banaaleetanga ebyokulya oba ebintu ebirala byonna okubitunda ku Sabbaato, tetuubibagulengako ku Sabbaato, oba ku lunaku olulala lwonna olutukuvu. Era mu buli mwaka ogw'omusanvu, tetuulimenga misiri gyaffe, era tetuubanjenga bbanja na limu. Twetemye okuwangayo buli mwaka ekitundu kimu ekyokusatu ekya sekeli olw'emirimu gy'Essinzizo. “Era tunaawangayo ebintu bino: emigaati emitukuvu n'ebiweebwayo buli lunaku eby'empeke, n'ensolo ezookebwa mu bitambiro buli lunaku, n'ebiweebwayo ebya buli Sabbaato, n'ebiweebwayo ng'omwezi gubonese, ne ku mbaga endala, n'ebintu ebirala ebitukuvu, n'ebiweebwayo okutambira olw'ebibi bya Yisirayeli. Tunaawangayo n'ebintu ebirala byonna ebyetaagibwa mu Ssinzizo. “Era bakabona, n'Abaleevi, naffe abalala, tunaakubanga obululu buli mwaka, okulonda ebika ebinaaleetanga mu mpalo ekiweebwayo eky'enku mu Ssinzizo lya Katonda waffe, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka. “Twetemye okuleetanga mu Ssinzizo buli mwaka, ebirime ebisooka okukungulwa mu nnimiro zaffe, n'ebibala ebisooka okunogebwa ku miti gyonna egy'ebibala. “Batabani baffe abaggulanda tunaabatwaliranga bakabona abaweereza mu Ssinzizo, ne tubawaayo eri Mukama, nga bwe kyalagirwa mu Mateeka. Era tunaawangayo eri Mukama ensolo zaffe ezisooka okuzaalibwa: ente n'embuzi n'endiga. “Buli mwaka, tunaaleetanga eri bakabona abali mu Ssinzizo, omutemwa gw'emmere yaffe ey'empeke esooka okukungulwa, era n'omwenge, n'omuzigo ogw'emizayiti, n'ebibala eby'oku miti egya buli ngeri. N'Abaleevi tunaabatwaliranga ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'amakungula gaffe, kubanga Abaleevi abo, be baweebwa ekitundu ekimu eky'ekkumi, mu byalo byaffe byonna gye tulimira. Kabona, muzzukulu wa Arooni, anaabeerangawo ng'Abaleevi baweebwa ebitundu eby'ekkumi. Era Abaleevi banaaleetanga mu tterekero ly'omu Ssinzizo lya Katonda waffe ekitundu kimu eky'ekkumi eky'ebitundu eby'ekkumi bye bafunye. Ddala Abayisirayeli n'Abaleevi banaaleetanga omutemwa gw'emmere ey'empeke, n'omwenge, n'omuzigo gw'emizayiti, mu tterekero, omukuumirwa ebintu ebikozesebwa mu Kifo Ekitukuvu, okumpi n'ekifo bakabona abali ku mulimu, n'abakuumi, n'abayimbi, gye basula. “Tetujjanga kulagajjalira Ssinzizo lya Katonda waffe.” Mu biseera ebyo, abakulembeze b'abantu mu ggwanga, ne babeeranga mu Yerusaalemu. Abantu abalala ne bakuba obululu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi, okubeeranga mu Yerusaalemu, ekibuga ekitukuvu, n'abalala omwenda ku buli kkumi, okubeeranga mu bibuga ebirala. Era abantu ne basiima nnyo abasajja abeeronda ku bwabwe okubeera mu Yerusaalemu. Kyokka Abayisirayeli abalala ne bakabona, n'Abaleevi, n'abakozi b'omu Ssinzizo, n'abazzukulu b'abaddu ba Solomooni, babeeranga mu bibanja byabwe mu bibuga ebirala ebya Buyudaaya. Bano be batuuze abakulu mu kitundu kya Buyudaaya abaabeeranga mu Yerusaalemu: mwalimu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n'abamu ku bazzukulu ba Benyamiini. Mu bazzukulu ba Yuda, mwalimu Ataya mutabani wa Wuzziya era muzzukulu wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Amariya, Amariya mutabani wa Sefatiya, Sefatiya mutabani wa Mahalaleeli, asibuka mu Pereezi, mutabani wa Yuda. Era mwalimu Maaseya mutabani wa Baruku, Baruku mutabani wa Koluhoze, Koluhoze mutabani wa Hazaaya, Hazaaya mutabani wa Adaaya, Adaaya mutabani wa Yoyaribu, Yoyaribu mutabani wa Zekariya asibuka mu Seela, mutabani wa Yuda. Bazzukulu ba Pereezi bonna abaabeeranga mu Yerusaalemu, baali ebikumi bina mu nkaaga mu munaana, abasajja abazira. Ate bazzukulu ba Benyamiini: Sallu mutabani wa Mesullamu, Mesullamu mutabani wa Yowedi, Yowedi mutabani wa Pedaaya, Pedaaya mutabani wa Kolaya, Kolaya mutabani wa Maaseya, Maaseya mutabani wa Yitiyeeli, Yitiyeeli mutabani wa Yesaaya. Baganda ba Sallu be bano: Gabbayi ne Sallayi. Ababenyamiini bonna awamu baali lwenda mu abiri mu munaana mu Yerusaalemu. Yoweeli mutabani wa Zikuri ye yali omukulembeze waabwe, ne Yuda mutabani wa Hassenuwa, ye yali omumyuka w'omukulu w'ekibuga. Ku bakabona, kwaliko Yedaaya mutabani wa Yoyaribu, ne Yakini, ne Seraya mutabani wa Hilukiya, Hilukiya mutabani wa Mesullamu, Mesullamu mutabani wa Zaddooki, Zaddooki mutabani wa Merayooti, Merayooti mutabani wa Ahituubu Ssaabakabona omukulu w'Essinzizo. Abo ne baganda baabwe bonna awamu abaaweerezanga mu Ssinzizo, baali lunaana mu abiri mu babiri. Okwo kw'ossa ne Adaaya mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Pelaliya, Pelaliya mutabani wa Amuzi, Amuzi mutabani wa Zekariya, Zekariya mutabani wa Pasuhuuri, Pasuhuuri mutabani wa Malukiya. Bonna awamu, Adaaya ne baganda be baali ebikumi bibiri mu ana mu babiri, abaakuliranga ennyumba za bajjajjaabwe. N'omulala ye Amasusayi mutabani wa Azareeli, Azareeli mutabani wa Ahuzayi, Ahuzayi mutabani wa Mesillemoti, Mesillemoti mutabani wa Yimmeri. Bano awamu ne baganda baabwe, baali kikumi mu abiri mu munaana, abasajja ab'amaanyi era abazira. Omukulembeze waabwe yali Zabudiyeeli, mutabani wa Haggedoliimu. Mu Baleevi, mwalimu Semaaya mutabani wa Hassubu, Hassubu mutabani wa Azurikaamu, Azurikaamu mutabani wa Hasabiya, Hasabiya mutabani wa Bunni. Okwo kw'ogatta Sabbetaayi ne Yozabadi abamu ku Baleevi abakulu abaalabiriranga emirimu gy'ebweru egy'Essinzizo. Ne Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka mutabani wa Zabudi, Zabudi mutabani wa Asafu eyakulemberanga mu kusinza okw'okwebaza, ne Bakubukiya eyamyukanga Mattaniya, ne Abuda mutabani wa Sammuwa, Sammuwa mutabani wa Gaalaali, Gaalaali mutabani wa Yedutuuni. Abaleevi bonna mu kibuga ekitukuvu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana. Abaggazi be bano: Akkubu ne Talumooni ne baganda baabwe abaakuumanga emiryango, baali kikumi mu nsanvu mu babiri. Abayisirayeli abalala ne bakabona n'Abaleevi, baabeeranga mu bibuga ebirala byonna ebya Buyudaaya, buli omu mu kibanja kye. Naye abaweereza b'omu Ssinzizo baabeeranga mu Yerusaalemu, mu kitundu kye bayita Ofeli, era baalabirirwanga Ziha ne Gisupa. Eyalabiriranga Abaleevi mu Yerusaalemu yali Wuzzi, mutabani wa Baani, Baani mutabani wa Hasabiya, Hasabiya mutabani wa Mattaniya, Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka asibuka mu nnyumba ya Asafu. Ab'ennyumba ya Asafu be baali abayimbi mu Ssinzizo. Era kabaka yali ataddewo ekiragiro era n'enkola abayimbi abo bye banaagobereranga buli lunaku. Petahiya mutabani wa Mesezabeli ow'omu nnyumba ya Zeera mu kika kya Yuda, ye yakiikiriranga Abayisirayeli ewa kabaka w'e Perusiya. Abantu abamu baabeeranga mu bibuga ne mu byalo ebiri okumpi n'ennimiro zaabwe. Ab'omu kika kya Yuda baabeeranga mu bibuga: Kiriyati-Aruba, ne Diboni, ne Yekabuzeeli, ne mu byalo ebibyetoolodde. Era baabeeranga mu bibuga Yeswa, ne Molada, ne Betipeleti, ne mu Hazarusuwali, ne Beruseba, ne mu byalo ebikyetoolodde. Baabeeranga mu bibuga Zikulagi ne mu Mekona, ne mu byalo byakyo, ne mu Enurimmoni, ne mu Zora, ne mu Yarumuti, ne mu Zanowa, ne mu Adullamu, ne mu byalo ebibiriraanye. Baabeeranga mu Lakisi n'ennimiro zaakyo, ne mu Azeka n'ebyalo byakyo. Bwe batyo baabeeranga mu kitundu okuva e Beruseba okutuuka mu kiwonvu ky'e Hinnomu. Ab'omu Kika kya Benyamiini baabeeranga okuva e Geba n'okweyongerayo okutuuka e Mikumasi ne Ayiya, ne Beteli n'ebyalo byakyo, ne mu Anatooti ne Nobu, ne Ananiya, ne Hazori, ne Raama, ne Gittayiimu, ne Hadidi, ne Zeboyiimu, ne Neballati, ne Loodi, ne Ono, ne mu kiwonvu ky'abakola emirimu egy'emikono. Ebibinja by'Abaleevi ebimu byabeeranga mu kitundu kya Yuda, n'ebirala mu kitundu kya Benyamiini. Luno lwe lukalala lwa bakabona n'Abaleevi abaava mu buwaŋŋanguse, nga bali ne Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yeswa, ne Seraya, ne Yeremiya, ne Ezera, ne Amariya, ne Malluki, ne Hattusi, ne Sekaniya, ne Rehumu, ne Meremooti, ne Yiddo, ne Ginnetoyi, ne Abiya ne Miyamini, ne Maadiya, ne Biluga, ne Semaaya, ne Yoyaribu, ne Yedaaya, ne Sallu, ne Amoki, ne Hilukiya ne Yedaaya. Bano be baali bakabona abakulu abaakulemberanga bannaabwe mu biseera bya Yeswa. Ate Abaleevi ye Yeswa, ne Binnuyi, ne Kadumyeli, ne Serebiya, ne Yuda, ne Mattaniya eyali awamu ne baganda be, nga ye akulembera ennyimba ez'okwebaza. Ate Bakubukiya, ne Wunno, baganda baabwe, be baayimiriranga mu maaso okuyimba ebiddibwamu. Yoswa yazaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eliyasibu, Eliyasibu n'azaala Yoyaada, Yoyaada n'azaala Yonataani, Yonataani n'azaala Yadduwa. Bano be baali abakulu b'ennyumba za bakabona mu kiseera Yoyakimu we yabeerera Ssaabakabona: eyali akulira ennyumba eya Seraya, Meraya; eya Yeremiya, Hananiya; eya Ezera, Mesullamu; eya Amariya, Yehohanani; eya Malluki, Yonataani; eya Sebaniya, Yosefu; eya Harimu, Aduna; eya Merayooti, Helukayi; eya Yiddo, Zekariya; eya Ginnetoni, Mesullamu; eya Abiya, Zikuri; eya Miniyamini, eya Mowadiya, Pilutaayi; eya Biluga, Sammuwa; eya Semaaya, Yehonataani; eya Yoyaribu, Mattenayi; eya Yedaaya, Wuzzi; eya Sallayi, Kallayi; eya Amoki, Eberi; eya Hilukiya, Hasabiya; eya Yedaaya, Netaneeli. Mu mirembe gya bassaabakabona Eliyasibu ne Yoyaada, ne Yohanaani, ne Yadduwa, Abaleevi ne bawandiikibwa mu kitabo ky'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe. Ne bakabona nabo ne bawandiikibwa, okutuusa ku mulembe gwa Dariyo nga ye kabaka w'e Perusiya. Abakulu b'ennyumba z'Abaleevi, baawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka, okutuuka mu biseera bya Yohanaani, mutabani wa Eliyasibu. Hasabiya ne Serebiya, ne Yeswa mutabani wa Kadumyeli be baali abakulu b'Abaleevi. Baatunuuliragananga ne baganda baabwe okuyimba ennyimba ez'okutendereza n'okwebaza Katonda, ng'oludda olumu luyimba ebiddibwamu, nga Dawudi, omuntu wa Katonda, bwe yalagira. Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumooni, ne Akkubu, be baali abaggazi abaakuumanga amawanika ag'oku miryango gy'Essinzizo. Abo baaliwo mu kiseera kya Yoyakimu, mutabani wa Yeswa era muzzukulu wa Yehozadaaki, ne mu kiseera kya Nehemiya omufuzi, ne mu kya Ezera kabona era omunnyonnyozi w'Amateeka. Awo ekiseera bwe kyatuuka okutukuza ekisenge kya Yerusaalemu, ne bakuŋŋaanya Abaleevi yonna gye baali, bajje e Yerusaalemu, beetabe mu kijaguzo eky'okutukuza ekisenge, bayimbe ennyimba ez'okwebaza, nga bakuba ebitaasa n'ennanga, n'okufuuwa endere. Abaleevi abayimbi ne bakuŋŋaana, nga bava mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemu, ne mu byalo by'e Netofa, ne Betigilugaali ne mu kitundu ky'e Geba, ne Azumaveti, kubanga abayimbi abo baali beezimbidde mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemu. Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza, ne batukuza abantu, n'emiryango, n'ekisenge kya Yerusaalemu. Awo ne mpita abakulu b'omu Buyudaaya ne balinnya ku ntikko y'ekisenge. Ne mbaawulamu ebibinja bibiri ebyagendanga bikumba okwetooloola ekibuga, nga byebaza Katonda. Ekibinja ekimu ne kitambula nga kidda ku mukono ogwa ddyo okwolekera Omulyango gw'Ebisasiro. Hosaaya n'ava emabega w'abayimbi ng'agobererwa ekimu ekyokubiri eky'abakulembeze ba Buyudaaya, ne Azariya, ne Ezera, ne Mesullamu, ne Yuda, ne Benyamiini, ne Semaaya, ne Yeremiya, n'abamu ku batabani ba bakabona, abaagendanga bafuuwa amakondeere, era be bano: Zekariya mutabani wa Yonataani era muzzukulu wa Semaaya, Semaaya mutabani wa Mattaniya, Mattaniya mutabani wa Miikaaya, Mikaaya mutabani wa Zakkuri, Zakkuri mutabani wa Asafu, ne baganda be; Semaaya, ne Azareeli, ne Milalayi, ne Gilalayi, ne Maayi, ne Netaneeli, ne Yuda, ne Hanani, abaagendanga bakuba ebivuga bya Dawudi, omuntu wa Katonda, era Ezera omunnyonnyozi w'Amateeka ng'akulembeddemu. Awo ne bayita mu Mulyango gw'Oluzzi, ne bagenda butereevu mu maaso gaabwe, ne balinnya ku lutindo olulaga mu kibuga kya Dawudi, ekisenge we kyambukira waggulu w'olubiri lwa Dawudi, ne batuuka ku kisenge ekiri ku Mulyango gw'Amazzi, mu buvanjuba bw'ekibuga. Ekibinja ekirala eky'abo abajja okwebaza, ne kigenda ku kkono. Nze n'ekimu ekyokubiri eky'abakulembeze b'abantu, ne tubagoberera, ne tutambulira ku kisenge waggulu, ne tuyita ku Munaala gw'Ettanuulu okutuukira ddala ku Kisenge Ekigazi. Ne tuyita engulu w'Omulyango gwa Efurayimu, ne ku Mulyango Omukadde, tuutwo ku Mulyango gw'Ebyennyanja, ne ku Munaala gwa Hananeeli, ne ku Munaala ogw'Ekikumi. Ne tuyita ku Mulyango gw'Endiga, ne tutuuka ku Mulyango gw'Abakuumi, awo we twakoma. Awo ebibinja byombi ebyebaza ne biyimirira mu Ssinzizo, era nange bwe ntyo wamu n'ekimu ekyokubiri eky'abakulembeze be nali nabo, omwali ne bakabona: Eliyakimu, ne Maaseya, ne Miniyamini, ne Mikaaya, ne Eliyowenayi, ne Zekariya, ne Hananiya, abo nga balina amakondeere, ne Maaseya, ne Semaaya, ne Eleyazaari, ne Wuzzi, ne Yehohanani, ne Malukiya, ne Elamu, ne Ezeri. Abayimbi ne bayimba mu ddoboozi ery'omwanguka nga bakulemberwa Yezirakiya. Ku lunaku olwo ne bawaayo ebitambiro bingi nga bayimba mu maloboozi ag'omwanguka, kubanga Katonda yali abawadde essanyu. Abakazi n'abaana nabo ne beetaba mu kujaguza, era okusanyuka okwo okwali mu Yerusaalemu ne kuwulirwa n'ewala. Ku lunaku olwo ne balonda abantu ab'okulabiriranga amaterekero agakuumirwamu ebiweebwayo eby'Essinzizo omuli ekimu eky'ekkumi, emmere ey'empeke n'ebibala bye baasookanga okukungula. Era baalina okukuŋŋaanyizaamu emigabo egiragirwa mu Mateeka okuweebwa bakabona n'Abaleevi, okuva mu nnimiro eziriraanye ebibuga. Abantu b'omu Buyudaaya baasanyuka olwa bakabona Abaleevi abaaweereza, kubanga baakola emikolo egy'okwetukuza, n'emikolo emirala, Katonda waabwe gye yabalagira. Era abayimbi n'abaggazi, nabo baakola omulimu gwabwe, nga bagoberera ebiragiro bya Dawudi ne mutabani we Solomooni, bye baateekawo. Era okuva edda mu biro bya Dawudi ne Asafu, waaliwo akulira abayimbi, era nga waliwo n'ennyimba ez'okutendereza n'okwebaza Katonda. Mu biro bya Zerubabbeeli ne mu biro bya Nehemiya, Abayisirayeli bonna baawangayo ebirabo buli lunaku okuyimirizaawo abayimbi n'abaggazi. Era baawangayo n'emigabo gy'Abaleevi, ate Abaleevi ne baawulako emigabo gy'abaana ba Arooni. Ku lunaku olwo, ne basomera abantu mu kitabo kya Musa. Ne basanga nga kyawandiikibwa nti: “Tewali Mwammoni wadde Omumowaabu akkirizibwa kwetaba mu lukuŋŋaana lwa bantu ba Katonda, kubanga Abayisirayeli bwe baali bava e Misiri, Abammoni n'Abamowaabu, tebaabawa mmere, wadde amazzi. Kye baakola kwe kugulirira Balamu abakolimire. Naye Katonda waffe, ekikolimo n'akifuula omukisa.” Abantu bwe baawulira Etteeka eryo, ne baggya mu Bayisirayeli abo bonna ab'amawanga amalala. Ebyo nga tebinnabaawo, kabona Eliyasibu, eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge by'omu Ssinzizo lya Katonda waffe, yalina enkolagana emugatta ne Tobiya. N'ategekera Tobiya oyo ekisenge ekinene ekyakuumirwangamu ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'obubaane, n'ebintu ebyakozesebwanga mu Ssinzizo, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'emmere ey'eŋŋaano, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo ogw'emizayiti, ebyali biteekwa okuweebwa Abaleevi, n'abayimbi, n'abaggazi era n'ebyo ebyakuŋŋaanyizibwanga nga bya bakabona. Ekyo okubaawo, nali siri mu Yerusaalemu, kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogw'obufuzi bwa kabaka Arutazeruzeesi ow'e Babilooni, nali nzizeeyo gy'ali okweyanjula. Bwe waayitawo ekiseera, ne mmusaba n'anzikiriza, ne nzirayo e Yerusaalemu. Bwe natuuka mu Yerusaalemu, ne ntegeera ekibi Eliyasibu kye yakola, bwe yategekera Tobiya ekisenge mu Ssinzizo. Ekyo kyannakuwaza nnyo, kyennava nzigya ebintu bya Tobiya byonna mu kisenge, ne mbikasuka ebweru. Awo ne ndagira, ne balongoosa ebisenge, ne ndyoka nzizaayo ebintu ebikozesebwa mu Ssinzizo, eby'emmere ey'empeke era n'obubaane. Era ne ntegeera ng'Abaleevi, n'abayimbi baali tebaweereddwa migabo gyabwe, era nga bonna bazzeeyo mu maka gaabwe mu byalo. Ne nvunaana abakulu olw'obutafaayo ku Ssinzizo. Bwe ntyo ne nkomyawo Abaleevi, n'abayimbi, ne mbazza mu bifo byabwe. Olwo abantu b'omu Buyudaaya ne baddamu okuleeta ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo ogw'emizayiti mu mawanika. Era ne nnonda Selemiya kabona, ne Zaddooki omunnyonnyozi w'Amateeka, ne Pedaaya Omuleevi, okuba abawanika, nga bayambibwako Hanani mutabani wa Zakkuri era muzzukulu wa Mattaniya. Bano baalowoozebwa okuba abeesigwa, era omulimu gwabwe gwali gwa kuwanga bakozi bannaabwe omugabo gwabwe. Onzijukiranga olwa kino, ayi Katonda wange, era teweerabiranga bikolwa byange ebirungi, bye nakolera Essinzizo lyo, n'olw'emirimu egikolerwamu okukuweereza. Awo mu biseera ebyo, ne ndaba abantu b'omu Buyudaaya nga basogola omubisi gw'emizabbibu ku lunaku lwa Sabbaato. Abalala baali batikka ku ndogoyi zaabwe ebinywa by'eŋŋaano, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'emizabbibu, n'emizayiti, n'emigugu egya buli ngeri, nga babireeta mu Yerusaalemu. Nabalabula obutatunda kintu na kimu ku lunaku lwa Sabbaato. Abasajja b'omu Tiiro, abaabeeranga mu Yerusaalemu, baaleetanga ebyennyanja n'ebintu ebirala, ne babiguza ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, ku lunaku lwa Sabbaato. Awo ne nvunaana abakulembeze mu Buyudaaya, ne mbagamba nti: “Kiki ekibakozesa ekibi kino okwonoona olunaku lwa Sabbaato? Bajjajjammwe si bwe baakola bwe batyo? Era Katonda si kwe yava okutubonereza, era n'azikiriza ekibuga kino? Kaakati laba mwongera okuleetera Katonda okusunguwalira Yisirayeli, nga mwonoona olunaku lwa Sabbaato.” Awo ne ndagira emiryango gyonna egya Yerusaalemu giggalwengawo obudde oluwungeera, enkeera nga ye Sabbaato. Ne mbalagira obutagiggula okutuusa nga Sabbaato eweddeko. Era ne nteeka abamu ku baweereza bange ku miryango egyo bagikuume, obutakkiriza kuyingiza kintu na kimu mu kibuga ku Sabbaato. Olwo abasuubuzi n'abatunda ebintu ebya buli kika ne basula ebweru wa Yerusaalemu omulundi gumu oba ebiri. Naye ne mbalabula, ne mbagamba nti: “Lwaki musula ebweru w'ekibuga? Bwe munaddamu okusulayo omulundi omulala, nja kubakwata.” Okuva ku olwo tebaakomawo ku lwa Sabbaato. Awo ne ndagira Abaleevi beetukuze, era bajje bakuume emiryango, okukakasa nti Sabbaato ekuumibwa nga ntukuvu. Ayi Katonda wange onzijukiranga n'olwa kino, era onsaasire olw'ekisa kyo ekingi. Awo mu biseera ebyo, era ne ndaba abasajja Abayudaaya bangi, abaali bawasizza abakazi Abasudoodi n'Abammoni, n'Abamowaabu. Kimu kyakubiri eky'abaana baabwe baali boogera lulimi Olusudoodi oba olulimi olw'abantu ab'eggwanga eddala, kyokka nga tebayinza kwogera lulimi Luyudaaya. Ne mbavunaana era ne mbakolimira. Abamu ne mbakuba era ne mbakuunyuula enviiri. Awo ne mbalayiza Katonda nti: “Temukkirizenga bawala bammwe kufumbirwa batabani ba bagwira wadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe, era nammwe temuubawasenga.” Ne mbagamba nti: “Temumanyi nga Solomooni kabaka wa Yisirayeli abakazi ng'abo be baamuleetera okwonoona? Solomooni yali mututumufu okusinga bakabaka bonna ab'amawanga amalala, era nga yayagalwa nnyo Katonda we, era Katonda yamufuula Kabaka wa Yisirayeli yonna. Kyokka abakazi ab'amawanga amalala baamukozesa ekibi. Kale tunaawuliriza mmwe, ne tukola ekibi ekyenkana awo, ne tulyamu Katonda waffe olukwe, nga tuwasa abakazi ab'amawanga amalala?” Omu ku batabani ba Yoyaada mutabani wa Eliyasibu Ssaabakabona, yali awasizza muwala wa Sanuballati Omuhoroni, kyennava mmugoba we ndi. Ayi Katonda wange, abo bajjukire, kubanga boonoonye obwakabona, n'endagaano ey'obwakabona n'ey'Abaleevi. Awo ne ntukuza abantu okubaggyako byonna eby'ab'amawanga amalala. Bakabona n'Abaleevi ne mbateekerawo ebiragiro eby'okugoberera, nga biraga emirimu gyabwe buli omu; era ne nkola entegeka ey'enku ezeeyambisibwa okwokya ebiweebwayo, n'okuzireetanga mu budde obutuufu, era n'abantu okuleeta ebiweebwayo byabwe, eby'ebibala ebisooka okukungulwa. Ayi Katonda wange onzijukiranga n'ompa ebirungi. Mu mirembe gya Ahaswero, obwakabaka bwa Ahaswero oyo bwali buva e Buyindi okutuuka e Kuusi, nga bulimu ebitundu by'amatwale kikumi mu abiri mu musanvu. Mu kiseera ekyo, entebe ye ey'obwakabaka yabeeranga mu kibuga ekikulu Susa ekya Perusiya. Awo Kabaka Ahaswero, mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'agabula abafuzi n'abaami be bonna ekijjulo. Ab'amagye ga Perusiya ne Mediya, awamu n'abakungu n'abaami b'amasaza, nabo baaliwo. Kabaka n'ayolesa obugagga n'ekitiibwa eby'obwakabaka bwe, okumala ennaku nnyingi, ezaawerera ddala ekikumi mu ekinaana. Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, kabaka n'agabula abantu be bonna, abagagga n'abaavu, abaali mu kibuga ekikulu Susa, ekijjulo ekyamala ennaku omusanvu, nga kigabulirwa mu kidaala ekyakolebwa mu lubiri lwe. Ekidaala ekyo kyali kitimbiddwa entimbe ez'olugoye olweru n'olwa bbululu, nga zisibiddwa n'empeta eza ffeeza, n'emiguwa egya kakobe, ku mpagi ez'amayinja aganyirira. Ebitanda ebya zaabu ne ffeeza byali biteekeddwa ku mayinja amaaliire agenjawulo, aganyirira. Omwenge gwagabulirwa mu bikopo bya zaabu ebyenjawulo, nga tewali wadde ebibiri ebifaanagana, era kabaka yagabula omwenge mungi ddala. Tewaali tteeka liwaliriza muntu kunywa, kubanga kabaka yalagira abaweereza bonna ab'omu lubiri, buli omu okumuwa nga bw'ayagala. Mu kiseera kye kimu, Nnaabagereka Vasuti naye yali agabula abakazi mu lubiri lwa Kabaka Ahaswero. Ku lunaku olw'omusanvu olw'ekijjulo, kabaka bwe yanywa omwenge n'acamuka, n'ayita abalaawe be omusanvu: Mehumaani, Bizuta, Haruboona, Biguta, Abaguta, Zetari, ne Karukasi, abaamuweerezanga. N'abalagira okugenda okuleeta Nnaabagereka Vasuti, ajje ng'atikkidde engule ku mutwe. Nnaabagereka ono yali mukazi mulungi mubalagavu. Kabaka n'ayagala amulage abakungu be n'abagenyi be bonna, bamulabe nga bw'ali omulungi. Naye abalaawe bwe baategeeza Nnaabagereka Vasuti ekyo kabaka ky'alagidde, ye n'agaana okujja. Kino ne kisunguwaza nnyo kabaka, n'asuukiira olw'obusungu. Yali mpisa ya kabaka okwebuuza ku bakugu mu by'amateeka n'ebiragiro. Awo n'ayita abawi b'amagezi, kubanga be bamanyi ekisaana okukolebwa. Be yasinganga okwebuuzaako baali Karisena, Setari, Adimata, Tarusiisi, Meresi, Marisena, ne Memukani, abaami omusanvu aba Perusiya ne Mediya, abaali basinga okuba n'ebifo ebyawaggulu mu bwakabaka. N'abagamba nti: “Nze, Kabaka Ahaswero, nasindise abalaawe eri Nnaabagereka Vasuti, nga nnina kye mmulagira, naye yagaanye okukigondera! Kale amateeka gagamba gatya? Era kiki ekiteekwa okukolebwa ku Nnaabagereka ono?” Awo Memukani n'ategeeza kabaka n'abaami be nti: “Nnaabagereka Vasuti tanyoomye kabaka yekka, naye n'abaami ba kabaka bonna. Mu mazima, anyoomye buli musajja mu matwale gonna aga Kabaka Ahaswero. Buli mukazi mu bwakabaka, ajja kutandika okunyooma bba, amangu ddala ng'awulidde Nnaabagereka ky'akoze. Bajja kugamba nti: ‘Kabaka Ahaswero yalagira Nnaabagereka Vasuti okujja gy'ali, Vasuti n'agaana.’ Abakyala b'abaami bo mu Perusiya ne Mediya, bwe banaawulira nga Nnaabagereka bwe yeeyisizza, bajja kukitegeeza babbaabwe nga n'olunaku terunnaziba. Abakyala buli wantu banaaba tebakyassaamu babbaabwe kitiibwa, era abasajja bajja kusunguwalira bakazi baabwe. Bw'oba ng'osiimye, ayi Ssaabasajja, fulumya ekirangiriro ekigamba nti: ‘Vasuti taliddayo kulabika mu maaso ga Kabaka Ahaswero.’ Lagira kiwandiikibwe mu mateeka ga Perusiya ne Mediya, kireme kukyusibwa ennaku zonna. Ate ekifo kye eky'Obwannaabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga. Ekiwandiiko kyo bwe kinaabunyisibwa wonna mu bwakabaka bwo buno obunene bwe butyo, buli mukazi ajja kussangamu bba ekitiibwa, bba k'abe mugagga oba mwavu.” Kabaka n'abaami be ne basiima ekirowoozo ekyo, era kabaka n'akola nga Memukani bwe yateesa. Ekiwandiiko ne kiweerezebwa mu buli kitundu ekiri mu matwale ga kabaka, mu lulimi ne mu mpandiika eya buli kitundu, kisobozese buli musajja okubeera n'obuyinza, era n'okukozesa olulimi lw'eggwanga lye mu maka ge. Kabaka Ahaswero bwe yamala okukkakkana obusungu, n'asigala ng'alowooza ku kikolwa kya Vasuti, ne ku kirangiriro kye yali amufulumizzaako. Awo abaweereza ba kabaka, abaali okumpi naye, ne bagamba nti: “Ayi Ssaabasajja, bakunoonyeze abawala abato abalungi era embeerera. Tuma abaami bo mu bitundu byonna eby'omu bwakabaka bwo, bakuŋŋaanyize abawala bonna abato abalungi era embeerera, mu nnyumba yo ey'abakazi mu kibuga ekikulu Susa, bakwasibwe omulaawe wo Hegayi, alabirira abazaana, era bafumbirirwe bulungi. Olwo nno onoosobola okulondamu omuwala abasinga bonna, omufuule Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.” Kabaka n'asiima amagezi ago era n'agakolerako. Mu kibuga ekikulu Susa, mwalimu Omuyudaaya ng'ayitibwa Moruddekaayi mutabani wa Yayiri, Yayiri mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Kiisi ow'omu Kika kya Benyamiini. Moruddekaayi yali omu ku abo abaanyagibwa okuva mu Yerusaalemu, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni bwe yawangula era n'awaŋŋangusa Yekoniya, kabaka wa Buyudaaya. Yalina omuwala Esiteeri, muganda we gw'azaala, omuwala oyo ng'ayitibwa Hadasa mu Lwebureeyi. Yali alabika bulungi, nga mubalagavu. Bazadde be bwe baafa, Moruddekaayi n'amutwala n'amwola nga muwala we yennyini. Ekiragiro kya kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi ne baleetebwa mu kibuga ekikulu Susa. Mu abo ne Esiteeri mwe yajjira. Era naye n'ateekebwa mu lubiri, mu mikono gya Hegayi eyali alabirira abakazi. Omuwala oyo n'asanyusa nnyo Hegayi, Hegayi n'amuyisa bulungi n'ekisa. Teyalwa, n'atandika okumufumbirira, ng'asiimuulwa n'omuzigo, n'okuweebwa emmere ey'enjawulo. N'ateekebwa mu kifo ekisinga obulungi mu kisulo ky'abazaana, ng'alina n'abawala musanvu abaalondebwa mu b'omu lubiri okumuweerezanga. Esiteeri yali tayogedde ggwanga lye, wadde amaka mw'asibuka, kubanga Moruddekaayi yali amukuutidde okubisirikira. Buli lunaku, Moruddekaayi yeeyisaayisanga mu maaso g'oluggya lw'ekisulo ky'abazaana, asobole okumanya ebifa ku muwala we. Oluwalo olwa buli muwala okutwalibwa eri Kabaka Ahaswero nga terunnatuuka, omuwala yamalanga kufumbirirwa okumala omwaka mulamba, ng'etteeka ku bakazi bwe lyali: emyezi mukaaga ng'asiimuulwa n'omuzigo ogwa mmira, ate emyezi emirala omukaaga ng'asiimuulwa n'ebyobuwoowo, era n'ebirala ebikola ku bakazi. Omuwala bwe yabanga agenda eri kabaka mu ngeri eyo, buli ky'asaba ave nakyo mu nnyumba y'abazaana, okugenda mu lubiri lwa kabaka, kyamuweebwanga. Yatwalibwanga ewa kabaka akawungeezi, ate enkeera n'aggyibwayo, n'atwalibwa mu nnyumba y'abazaana endala, erabirirwa Saasugazi omulaawe. Omuwala teyaddangayo ewa kabaka, okuggyako nga kabaka amutumizza ng'amuyita n'erinnya. Esiteeri, muwala wa Abihayili, kitaawe omuto owa Moruddekaayi, era Moruddekaayi gwe yayola ng'omwana we ddala, bwe yatuusa ekiseera kye eky'okugenda eri kabaka, talina bye yasaba, okuggyako ebyo Hegayi omulaawe wa kabaka, era eyali alabirira abakazi, bye yamugamba, era ne yeewuunyisa buli eyamulabako. Mu mwaka ogw'omusanvu ogw'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi ogwa Tebeti, Esiteeri n'atwalibwa mu lubiri eri Kabaka Ahaswero. Awo kabaka n'ayagala Esiteeri okusinga abakazi bonna. N'amusiima era n'amuganza okukira abawala abalala. Bw'atyo n'amutikkira engule ey'obwakabaka, era n'amufuula Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti. Awo kabaka n'akola embaga nnene eyaliko abaami be bonna, n'abaweereza be ng'awasizza Esiteeri. Kabaka n'alangirira olunaku olw'okuwummula mu matwale ge, era n'agaba n'ebirabo bingi ebyatuukana n'ekitiibwa kye nga kabaka. Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogwokubiri, Moruddekaayi yali atudde ku mulyango gwa kabaka. Esiteeri yali tayogeranga maka mw'asibuka, wadde eggwanga lye, kubanga Moruddekaayi yali amukuutidde obutabuulirako muntu n'omu. Esiteeri n'amugondera ne mu kino, nga bwe yamugonderanga mu byonna mu buto, ng'akyali mu maka ge. Mu kiseera ekyo, Moruddekaayi ng'atudde ku mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigitaana ne Teresi abaggazi, ne basunguwala, ne bakola n'olukwe okutemula Kabaka Ahaswero. Moruddekaayi n'agwa mu lukwe olwo, n'alutegeezaako Nnaabagereka Esiteeri, Esiteeri n'abuulira kabaka mu linnya lya Moruddekaayi. Bwe baabuuliriza, ne basanga nga bwe kityo bwe kiri. Abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Ne kiwandiikibwa, nga kabaka alaba, mu kitabo ky'ebibaawo buli lunaku. Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Ahaswero n'awa Hamani obwakatikkiro. Hamani yali mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi. Abaweereza ba kabaka bonna abaali ku mulyango gwa kabaka, ne bavuunamiranga Hamani okumuwa ekitiibwa, nga kabaka bwe yali alagidde. Kyokka Moruddekaayi n'atamuvuunamira, era n'atamuwa kitiibwa. Awo abaweereza ba kabaka ne babuuza Moruddekaayi nti: “Lwaki ojeemera ekiragiro kya kabaka?” Awo olwatuuka, bwe baamala okumugambanga buli lunaku, n'agaana okubawulira, ne babuulira Hamani, okulaba oba nga anaagumiikiriza empisa za Moruddekaayi, kubanga Moruddekaayi yali ababuulidde nti Muyudaaya. Hamani bwe yalaba nga Moruddekaayi teyamuvuunamira wadde okumuwa ekitiibwa, n'ajjula obusungu. Era bwe yakitegeera nti Moruddekaayi Muyudaaya, n'amalirira obutabonereza Moruddekaayi yekka, wabula n'okuzikiriza abantu ba Moruddekaayi, Abayudaaya bonna, mu bwakabaka bwa Ahaswero bwonna. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'obufuzi bwa Kabaka Ahaswero, mu mwezi ogusooka, gwe mwezi ogwa Nisani, Hamani n'alagira okukubisa akalulu, ako ke kayitibwa Puri, okulaba olunaku n'omwezi, okuzikiririzaako Abayudaaya bonna mu lunaku lumu. Olunaku olwasalibwawo lwali olw'ekkumi n'essatu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Adaari. Awo Hamani n'agamba Kabaka Ahaswero nti: “Waliwo eggwanga ly'abantu erimu erisaasaanye ne libuna mu bantu, mu bitundu byonna eby'obwakabaka bwo. Amateeka gaabwe, maawufu ku g'abantu abalala bonna, era tebakwata mateeka go, ayi Ssaabasajja. N'olwekyo tekiyamba kabaka okubagumiikiriza. Oba ng'osiima, ayi Ssaabasajja, yisa etteeka eriragira bazikirizibwe. Kino bw'onookikola, nja kuleeta mu ggwanika ly'obwakabaka talanta omutwalo gumu eza ffeeza, nzikwase abo abalabirira emirimu gy'obwakabaka.” Awo kabaka n'anaanula ku ngalo ye, empeta eyakozesebwanga okussa akabonero ku birangiriro ebitongole, n'agiwa Hamani, omulabe w'Abayudaaya, mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi. Kabaka n'amugamba nti: “Ensimbi zisigaze, n'abantu nkukkirizza obakoleko ky'oyagala.” Awo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogusooka, abawandiisi ba kabaka ne bayitibwa. Ne bawandiika ekirangiriro, omuli byonna Hamani bye yalagira abakungu ba kabaka, n'abaami abafuga buli kitundu, n'abakulu ba buli ggwanga. Buli kitundu ne kiwandiikirwa mu mpandiika yaakyo, na buli ggwanga mu lulimi lwalyo. Ekirangiriro kyawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Ahaswero, era ne kiteekebwako akabonero k'empeta ye. Ababaka ne batwala ekirangiriro mu buli kitundu ky'obwakabaka. Ekirangiriro kyalimu okulagira okutta, okuzikiriza, n'okumalirawo ddala Abayudaaya bonna, abato n'abakulu, abakazi n'abaana, mu lunaku lumu olw'ekkumi n'essatu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari, n'okunyaga ebintu byabwe. Ebyakirimu byali bya kuba tteeka mu buli kitundu, birangirirwe eri abantu bonna beeteekereteekere olunaku olwo. Kabaka n'alagira ababaka ne bagenda, ne babunyisa mangu etteeka mu kibuga ekikulu Susa. Awo kabaka ne Hamani ne batuula okunywa, kyokka ng'ekibuga kyonna ekikulu Susa, kiguddemu akasattiro. Moruddekaayi bwe yamanya byonna ebyali bikoleddwa, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ebikutiya, ne yesiiga omutwe gwe gwonna evvu, n'ayita mu kibuga ng'akuba ebiwoobe eby'amaanyi, okutuuka lwe yatuuka ku mulyango gw'olubiri, naye n'atayingira, kubanga omuntu ayambadde ebikutiya teyakkirizibwanga kuyingira mu lubiri. Mu bitundu by'amatwale byonna, etteeka lya kabaka n'ekiragiro kye gye byatuuka, Abayudaaya ne beesaasaabaga nnyo, ne basiiba, ne bakaaba amaziga, ne bakuba ebiwoobe, era bangi ne bagalamira mu vvu nga bambadde ebikutiya. Esiteeri ne yennyamira nnyo, abaweereza be abakazi n'abalaawe bwe baamubuulira Moruddekaayi bye yali akola. N'amuweereza engoye ez'okwambala mu kifo eky'ebikutiya, naye Moruddekaayi n'atazikkiriza. Awo Esiteeri n'ayita omu ku balaawe ba kabaka eyali ateekeddwawo okumuweereza, eyayitibwanga Hataki, n'amutuma agende amanye byonna ebiriwo. Hataki n'agenda eri Moruddekaayi mu makkati g'ekibuga ku mulyango gw'olubiri. Moruddekaayi n'amutegeeza byonna ebyali bimutuuseeko, n'omuwendo gw'ensimbi Hamani gwe yali asuubizza okuleeta mu ggwanika ly'obwakabaka, singa Abayudaaya bonna bazikirizibwa. Moruddekaayi n'awa Hataki ebyali mu kirangiriro ekyali kifulumiziddwa mu Susa, ekiragira okusaanyaawo Abayudaaya. N'amugamba abitwalire Esiteeri era abimunnyonnyole, era amukuutire okugenda eri kabaka amwegayirire, era amusabe okukwatirwa abantu be Abayudaaya ekisa. Awo Hataki n'agenda n'abuulira Esiteeri, Moruddekaayi by'agambye. Ne Esiteeri n'awa Hataki obubaka obw'okuddiza Moruddekaayi nti: “Singa wabaawo omuntu, k'abe musajja oba mukazi, ayingira munda mu luggya, n'alaba kabaka nga tayitiddwa, omuntu oyo ateekwa kuttibwa. Etteeka lino buli omu alimanyi, okuva ku baweereza ba kabaka, okutuukira ddala ku bantu bonna ab'omu bitundu kabaka by'afuga. Wabula singa kabaka agololera omuntu omuggo gwe ogwa zaabu, olwo omuntu oyo tattibwa. Naye mmaze ennaku amakumi asatu nga siyitibwanga kugenda eri kabaka.” Awo ne babuulira Moruddekaayi Esiteeri by'agambye. Moruddekaayi n'abagamba okuddamu Esiteeri nti: “Tolowooza nti mu Bayudaaya bonna, ggwe onoowonawo kubanga oli mu lubiri lwa kabaka. Kubanga bw'onoosirika mu kiseera nga kino, Abayudaaya bajja kufuna obuyambi obw'okubawonya nga buva awalala, naye ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo, muzikirire. Ye ani amanyi oba nga wafuulibwa Nnaabagereka lwa biseera ebiri nga bino?” Esiteeri n'addamu Moruddekaayi nti: “Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susa, musiibe ku lwange. Temulya wadde okubaako kye munywa, okumala ennaku ssatu. Nze n'abaweereza bange abakazi, tujja kukola ekintu kye kimu. Oluvannyuma nja kugenda eri kabaka newaakubadde nga tekikkirizibwa. Oba kufa, kale nnaafa!” Moruddekaayi n'agenda n'akola nga Esiteeri bwe yamulagira. Ku lunaku olwokusatu, Esiteeri n'ayambala ebyambalo bye eby'Obwannaabagereka, n'agenda n'ayimirira mu luggya olwomunda olw'olubiri lwa kabaka, ng'atunuulidde ennyumba ya kabaka. Kabaka yali atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka mu lubiri, ng'atunudde eri omulyango gw'olubiri. Kabaka bwe yalaba Nnaabagereka Esiteeri ng'ayimiridde wabweru, n'amusanyukira, n'amugololera omuggo gwe ogwa zaabu gwe yali akutte. Esiteeri n'asembera awali kabaka n'akwata ku musa gw'omuggo gwa kabaka. Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'oyagala? Era kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.” Esiteeri n'amuddamu nti: “Singa osiima, ayi Ssaabasajja, kkiriza okujja ne Hamani olwaleero ku kijjulo kye nkufumbidde.” Kabaka n'agamba nti: “Mwanguye Hamani, tukole nga Esiteeri bw'agambye.” Awo kabaka ne Hamani ne bagenda ku kijjulo Esiteeri kye yali afumbye. Bwe baali banywa omwenge, kabaka n'agamba Esiteeri nti: “Kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.” Esiteeri n'addamu nti: “Kye njagala era kye nsaba kye kino: bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, ayi Ssaabasajja, era oba ng'osiima okumpa kye njagala, n'okutuukiriza kye nsaba, ayi Ssaabasajja, kale kkiriza ggwe ne Hamani okujja enkya ku kijjulo kye nnaabafumbira. Olwo enkya lwe nnaakola nga bw'ogambye, ayi Ssaabasajja.” Hamani n'ava ku kijjulo nga musanyufu era ng'ajaguza mu mutima gwe. Naye bwe yasanga Moruddekaayi ng'ali ku mulyango gw'olubiri, n'atayimuka wadde okulaga akabonero konna akamussaamu ekitiibwa ng'ayitawo, Hamani n'amusunguwalira nnyo. Kyokka n'afuga obusungu bwe, n'addayo eka. Awo n'ayita mikwano gye ne bajja mu nnyumba ye, n'agamba ne mukyala we Zeresi okubeegattako. Hamani n'abeenyumiririzaako olw'obugagga bwe, n'abaana ab'obulenzi b'alina, n'engeri kabaka gye yali amukuzizzaamu, okumuwa ekifo ekikulu, ekimufudde omuntu omukulu okusinga abakungu abalala bonna. Ne yeeyongera okubagamba nti: “N'ekisinga byonna, kwe kulaba nga Nnaabagereka Esiteeri, yayise nze nzekka okugenda ne kabaka ku kijjulo kye yafumbye. Era n'enkya ampise wamu ne kabaka. Kyokka bino byonna tebingasa nga nkyalaba Omuyudaaya oyo Moruddekaayi ng'atudde ku mulyango gw'olubiri.” Mukyala we Zeresi ne mikwano gye bonna ne bamuwa amagezi nga bagamba nti: “Zimbisa akalabba ka mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obugulumivu, enkya ku makya osabe kabaka, Moruddekaayi awanikibweko afe, olwo osobole okugenda ku kijjulo ne kabaka ng'oli musanyufu.” Hamani n'alowooza nti ago gaali magezi malungi. Bw'atyo n'azimbisa akalabba. Ekiro ekyo, kabaka n'abulwa otulo, n'alagira okumuleetera ekitabo eky'ebigwawo buli lunaku, ebigwana okujjukirwa, ne babimusomera. Ne basanga nga kiwandiikiddwa, nga Moruddekaayi bwe yaloopa olukwe, olwakolebwa Bigitaana ne Teresi, ababiri ku balaawe ba kabaka abaggazi, abaagezaako okutemula Kabaka Ahaswero. Kabaka n'abuuza nti: “Kitiibwa ki na bukulu ki Moruddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo?” Awo abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Tewali kyali kimuweereddwa.” Kabaka n'abuuza nti: “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Hamani yali yaakayingira mu luggya olw'ebweru olw'omu lubiri, ng'azze okusaba kabaka amuwe Moruddekaayi awanikibwe ku kalabba, ke yali amaze okukola. Abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Hamani ye ali mu luggya.” Kabaka n'agamba nti: “Ayingire.” Awo Hamani n'ayingira era kabaka n'amugamba nti: “Kiki ekigwanidde okukolerwa omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa?” Hamani n'alowooza mu mutima gwe nti: “Ani kabaka gwe yandyagadde okuwa ekitiibwa okusinga nze.” Awo Hamani n'agamba kabaka nti: “Omuntu kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, baleete ebyambalo bya kabaka bye yali ayambaddemu, n'embalaasi kabaka gye yali yeebagaddeko, era etikkiddwa ku mutwe engule ey'obwakabaka. Ebyambalo ebyo n'embalaasi, bikwasibwe omu ku bakungu ba kabaka abasingira ddala ekitiibwa, amwambaze ebyambalo ebyo, era amukulembere ng'amwebagazza embalaasi, amuyise mu kibuga wakati, agende ng'alangirira nti: ‘Bw'atyo omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, bw'agwanidde okuyisibwa!’ ” Awo kabaka n'agamba Hamani nti: “Yanguwa oleete ebyambalo n'embalaasi, Moruddekaayi Omuyudaaya omuwe ekitiibwa ekyo. Buli kyonna ky'oyogedde, ky'oba omukolera ddala obutalekaayo n'ekimu. Ojja kumusanga ng'atudde ku mulyango gw'olubiri.” Awo Hamani n'aleeta ebyambalo n'embalaasi n'ayambaza Moruddekaayi, n'amwebagaza embalaasi, n'amukulembera okumuyisa mu kibuga wakati, ng'agenda alangirira nti: “Bw'atyo omuntu, kabaka gw'ayagala okuwa ekitiibwa, bw'agwanidde okuyisibwa!” Ebyo bwe byaggwa, Moruddekaayi n'akomawo ku mulyango gwa kabaka. Naye Hamani n'ayanguwa okuddayo ewuwe ng'anakuwadde, era nga yeebisse omutwe gwe. Hamani n'abuulira mukyala we Zeresi ne mikwano gye bonna, buli kintu ekyali kimutuuseeko. Awo abasajja abagezi, ne Zeresi mukyala we, ne bamugamba nti: “Moruddekaayi oyo, nga bw'otandise okutoowazibwa mu maaso ge, bw'aba nga wa mu lulyo lwa Bayudaaya, tojja kumusobola, wabula ojja kweyongera bweyongezi okutoowazibwa.” Awo bwe baali nga bakyayogera, abalaawe b'omu lubiri ne bajja mu bwangu okutwala Hamani ku kijjulo, Esiteeri kye yali afumbye. Awo kabaka ne Hamani ne bagenda okulya ekijjulo ewa Nnaabagereka Esiteeri, omulundi ogwokubiri. Bwe baali banywa omwenge, kabaka n'agamba Esiteeri nate nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.” Awo Nnaabagereka Esiteeri n'agamba nti: “Bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, era bw'oba ng'osiimye, ayi Ssaabasajja, okumpa kye nsaba, nkusaba n'obuwombeefu mpeebwe obulamu bwange, era nkwegayirira, abantu bange baleme okuttibwa. Nze n'abantu bange tutundiddwa okuttibwa, okuzikirizibwa, n'okumalibwawo ddala. Singa kibadde kikoma ku kya kutundibwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise ne sikuteganya, newaakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa, kabaka bye yandifiiriddwa.” Awo Kabaka Ahaswero n'abuuza Nnaabagereka Esiteeri nti: “Ani ayinza okwaŋŋanga okukola ekintu ng'ekyo? Era omuntu oyo ali ludda wa?” Awo Esiteeri n'agamba nti: “Omulabe waffe, atuyigganya, ye musajja ono Hamani omubi.” Hamani n'atya nnyo mu maaso ga kabaka ne Nnaabagereka. Kabaka n'asituka ng'ajjudde obusungu, n'ava we yali anywera omwenge, n'afuluma ebweru, n'agenda mu bulimiro bw'omu lubiri. Hamani bwe yalaba nga kabaka amaliridde okumubonereza, n'asigalawo okwegayirira Nnaabagereka Esiteeri okuwonya obulamu bwe. Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu bulimiro bw'omu lubiri, n'ayingira mu kifo mwe yali anywera omwenge, n'asanga Hamani ng'agudde ku kitanda, Esiteeri kwe yali. Awo kabaka n'agamba nti: “Omusajja ono ayagala na kukwata Nnaabagereka wano mu maaso gange, mu lubiri lwange?” Olwayogera ekyo, ne babikka ku maaso ga Hamani. Awo Haruboona omu ku balaawe abaweereza kabaka n'agamba nti: “Era Hamani yabadde akoze n'akalabba mu maka ge ak'okuwanikako Moruddekaayi, eyawonya obulamu bwa Ssaabasajja. Obugulumivu bw'akalabba ako, bwa mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu.” Kabaka n'alagira nti: “Mumuwanike okwo.” Awo Hamani n'awanikibwa ku kalabba, ke yali akoledde Moruddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana. Ku lunaku olwo, Kabaka Ahaswero n'awa Nnaabagereka Esiteeri ebintu byonna ebyali ebya Hamani, omulabe w'Abayudaaya. Esiteeri n'abuulira kabaka nga Moruddekaayi bwe yali amulinako oluganda, era okuva olwo, Moruddekaayi n'akkirizibwa okujjanga mu maaso ga kabaka. Kabaka n'anaanula empeta ye eriko akabonero, gye yaggya ku Hamani, n'agiwa Moruddekaayi. Esiteeri n'akwasa Moruddekaayi obuvunaanyizibwa obw'okulabirira ebintu byonna ebyali ebya Hamani. Awo Esiteeri n'addamu okwogera ne kabaka. N'avuunama wansi w'ebigere bya kabaka nga bw'akaaba amaziga, n'amwegayirira okuziyiza entegeka ey'akabi era n'olukwe, Hamani asibuka mu Agagi, bye yali akoledde Abayudaaya. Awo kabaka n'agololera Esiteeri omuggo gwe ogwa zaabu. Esiteeri n'asituka, n'ayimirira mu maaso ga kabaka, n'agamba nti: “Bw'oba ng'osiima, ayi Ssaabasajja, era bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, era bw'olaba nga kituufu, era nga nsiimibwa mu maaso go, bawandiike ekirangiriro ekiziyiza ebbaluwa za Hamani mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi, ze yawandiika okumalirawo ddala Abayudaaya bonna, abali mu bitundu byonna eby'obwakabaka. Kubanga nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba akabi nga kajjira abantu bange? Oba nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba baganda bange nga bazikirizibwa?” Kabaka Ahaswero n'agamba Nnaabagereka Esiteeri ne Moruddekaayi Omuyudaaya nti: “Kaakano mmaze okuwanika Hamani ku kalabba olw'okuyigganya Abayudaaya, era mpadde Esiteeri ebintu byonna ebibadde ebya Hamani. Naye ekirangiriro ekimaze okuweebwa mu linnya lya kabaka, ne kissibwako n'akabonero k'empeta ya kabaka, tekiyinza kujjululwa. Wabula muyinza okuwandiikira Abayudaaya buli kye musiima, mu linnya lyange, musseeko n'akabonero k'empeta ya kabaka.” Kino kyaliwo ku lunaku olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogwokusatu, gwe mwezi gwa Sivaani. Moruddekaayi n'ayita abawandiisi ba kabaka, n'abawa ebigambo eby'okuwandiika mu bbaluwa ezaawandiikirwa Abayudaaya n'abaami bonna, abaali bafuga ebitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu, okuva e Buyindi okutuuka e Kuusi. Ebbaluwa ne ziwandiikirwa buli kitundu mu lulimi lwakyo n'empandiika yaakyo, n'Abayudaaya ne bawandiikirwa mu lulimi lwabwe mu mpandiika yaabwe. Moruddekaayi n'awandiika ebbaluwa zino mu linnya lya kabaka, n'assaako akabonero k'empeta ya kabaka. Ne zitwalibwa mangu ababaka abeebagadde embalaasi ezidduka ennyo, ezakozesebwanga emirimu gya kabaka, era ezaggyibwa mu bisibo bye. Mu bbaluwa ezo, kabaka n'akkiriza Abayudaaya abali mu buli kibuga okukuŋŋaana, basobole okutaasa obulamu bwabwe, era basobole okutta, okuzikiriza, n'okumalirawo ddala amagye gonna aga buli ggwanga oba ekitundu, agaba gabalumbye bo, ne bakazi baabwe, era n'abaana baabwe abato. Bayinza n'okwetwalira ebibadde ebintu eby'abalabe baabwe. Ekiragiro ekyo kyali kya kukola mu matwale gonna aga Kabaka Ahaswero, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari. Ebyali mu kirangiriro, byali bya kulangirirwa ng'etteeka mu buli kitundu, n'okumanyisibwa eri buli muntu, okusobozesa Abayudaaya okweteekateeka okuwoolera eggwanga ku balabe baabwe, ng'olunaku olwo lutuuse. Kabaka n'alagira ababaka, ne beebagala embalaasi ze ezidduka ennyo, ne bagenda. Etteeka ne lirangirirwa ne mu kibuga ekikulu Susa. Awo Moruddekaayi n'ava ewa kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya bbululu n'ebyeru, ng'asuulidde omunagiro ogw'olugoye olwa kakobe, era ng'ayambadde n'engule eyeekitiibwa eya zaabu. Awo abantu mu nguudo z'ekibuga Susa ne bakuba emizira, ne baleekaana olw'essanyu. Awo Abayudaaya ne baba bulungi, ne basanyuka, ne bajaguza, era ne baba n'ekitiibwa. Mu buli kibuga ne mu buli kitundu ekirangiriro kya kabaka gye kyasomebwanga, ng'Abayudaaya baba n'olunaku olw'okuwummula, nga basanyuka era nga bajaguza. Abantu b'amawanga amalala bangi ne batuuka n'okufuuka Abayudaaya, kubanga olwo Abayudaaya baali bafuuse abantu abatiisa. Awo olunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi ogwa Adaari, olwali olw'okutuukiririzaako ekiragiro n'etteeka kabaka bye yawa, era abalabe b'Abayudaaya lwe baali basuubira okubawangulirako bwe lwatuuka, ebintu ne bikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bawangula abalabe baabwe. Mu bifo ebibeeramu Abayudaaya, mu bibuga eby'omu matwale ga Kabaka Ahaswero, Abayudaaya ne bakuŋŋaana okulwanyisa buli muntu eyagezaako okubakolako akabi. Wonna wonna abantu ne batya Abayudaaya, era ne wataba ayinza kubalwanyisa. Abaali mu bifo ebitongole: abafuzi n'abaami b'ebitundu, awamu n'abakungu ba kabaka, bonna abo ne batuuka n'okuyamba Abayudaaya, olw'okutya Moruddekaayi. Kubanga Moruddekaayi yali muntu mukulu mu lubiri lwa kabaka, n'ettutumu lye nga libunye mu bitundu byonna eby'obwakabaka. Kubanga omusajja oyo Moruddekaayi, yeeyongeranga bweyongezi okuba n'obuyinza. Abayudaaya ne batta abalabe baabwe bonna nga babatema n'ebitala, ne babazikiriza okubamalawo. Ne bakola kye baagala ku abo abaabakyawa. Ne mu Susa, ekibuga ekikulu kyennyini, Abayudaaya ne batta ne bazikiriza abantu ebikumi bitaano. Ne batta Parisanidaata, ne Dalifoni, ne Asipata, ne Porata, ne Adaliya, ne Aridaata, ne Paramasita, ne Arisaayi, ne Aridaayi, ne Vayizaata, abatabani ekkumi aba Hamani, mutabani wa Hammedata era omulabe w'Abayudaaya. Naye ne batanyaga kintu na kimu. Awo ne bategeeza kabaka omuwendo gw'abantu abattibwa mu kibuga ekikulu Susa ku lunaku olwo lwennyini. Kabaka n'agamba Nnaabagereka Esiteeri nti: “Mu kibuga ekikulu Susa, Abayudaaya basse ne bazikiriza abantu ebikumi bitaano, ne batabani ba Hamani ekkumi. Kale abantu bameka be basse mu matwale ga kabaka gonna! Kati kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Oba, kiki era ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa.” Esiteeri n'addamu nti: “Bw'osiima, ayi Ssaabasajja, kkiriza Abayudaaya abali mu Susa, enkya baddemu okukola ekyo, kye bakkiriziddwa okukola olwaleero, n'emirambo gya batabani ba Hamani ekkumi, giwanikibwe ku kalabba.” Kabaka n'alagira bakole bwe batyo, era ekirangiriro ne kiweebwa mu Susa, emirambo egya batabani ba Hamani ekkumi, ne bagiwanika. Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olwa Adaari, Abayudaaya abaali mu Susa ne baddamu okukuŋŋaana, ne batta abantu ebikumi bisatu mu Susa. Naye ne batanyaga kintu na kimu. Awo Abayudaaya abalala abaali mu bitundu by'obwakabaka ne bakuŋŋaana, ne bataasa obulamu bwabwe ne beewonya abalabe baabwe. Mu abo abaabakyawa, ne battamu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano. Naye ne batanyaga kintu na kimu. Kino kyabaawo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogwa Adaari. Enkeera, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, ne bawummula ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'okusanyuka. Naye Abayudaaya abaali mu Susa, ne bakuŋŋaana ku lunaku olw'ekkumi n'essatu, ne ku lw'ekkumi n'ennya. Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano ne bawummula, ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'okusanyuka. Abayudaaya ab'omu byalo, abaabeeranga mu bibuga ebitaliiko bigo, kyebaava bafuula olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi gwa Adaari olunaku olw'okusanyukirako n'okuliirako embaga, era olw'okuwummula n'okuweerezaganirako ebirabo. Awo Moruddekaayi n'awandiika ebyo byonna ebyabaawo. Era Abayudaaya bonna abaali okumpi n'ewala mu matwale gonna aga Kabaka Ahaswero, n'abawandiikira ebbaluwa, ng'abalagira okukuzanga ennaku: olw'ekkumi n'ennya n'olw'ekkumi n'ettaano eza Adaari, buli mwaka. Ezo ze nnaku, Abayudaaya kwe beewonyeza abalabe baabwe. Ogwo gwe mwezi ogwafuuka ogw'essanyu mu kifo ky'obuyinike, era ogw'okuwummula mu kifo ky'okukungubaga. Baalagirwa okufuula ennaku ezo ez'okuliirako embaga, n'ez'okusanyukirako, n'ez'okuweerezaganirangako ebirungi, n'okugabirangako abaavu ebirabo. Abayudaaya ne bakkiriza okukolanga ekyo kye baali batandise, era nga Moruddekaayi bwe yabawandiikira. Kubanga Hamani mutabani wa Hammedata, asibuka mu Agagi era omulabe w'Abayudaaya bonna, yali abakoledde olukwe okubazikiriza, era yali akubisizza akalulu, ako ke kayitibwa Puri, okubamalawo n'okubazikiriza. Naye Esiteeri bwe yagenda eri kabaka, kabaka n'awandiika ebbaluwa ng'alagira nti olukwe olwo nnamuzisa, Hamani lwe yali akoledde Abayudaaya, lumwekyusize, era ye ne batabani be bawanikibwe ku kalabba. Ennaku ezo kyebaava baziyita Purimu olw'erinnya Puri, akalulu. Kale olw'ebigambo ebyali mu bbaluwa eyo, n'olw'ebyo bye baalaba ebifa ku nsonga eno, n'olw'ebyo ebyabatuukako, Abayudaaya kyebaava balifuula etteeka ku bo bennyini, ne ku zzadde lyabwe, ne ku buli alifuuka Omuyudaaya, nti ennaku ezo zombi zikuzibwenga buli mwaka awatali kwosa nga bwe kyawandiikibwa, era ng'ebiseera byazo bwe byategekebwa. Era baasalawo nti ennaku ezo zijjukirwenga era zikuzibwenga mu buli mulembe, ne mu buli maka ne mu buli kitundu ne mu buli kibuga, era ennaku ezo eza Purimu ziremenga kugyibwawo mu Buyudaaya, wadde okwerabirwa bazzukulu baabwe. Awo Nnaabagereka Esiteeri muwala wa Abihayili, ng'ali wamu ne Moruddekaayi Omuyudaaya, n'awandiika ebbaluwa ng'akozesa obuyinza bwe bwonna, okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eyogera ku Purimu. Ebbaluwa n'agiweereza Abayudaaya bonna mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu eby'obwakabaka bwa Ahaswero, ng'ebaagaliza emirembe, era ng'ebakubiriza okuba abaamazima. Yabawandiikirwa okukakasa ennaku ezo eza Purimu, mu biseera byazo ebyateekebwawo, nga Moruddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabagereka Esiteeri bwe baabalagira, era nga bo be nnyini Abayudaaya bwe baali beeteereddewo ebiragiro eby'okusiiba, n'ebiseera eby'okukungubaga. Awo ekiragiro kya Esiteeri ne kikakasa amateeka ga Purimu, era ne kiwandiikibwa mu kitabo. Awo Kabaka Ahaswero n'asalira abantu ab'oku lukalu n'ab'omu bizinga eby'omu nnyanja omusolo. Ebyo byonna bye yakola ebiraga obuyinza bwe n'amaanyi ge, era n'ebyo ebiraga nga bwe yatuusa Moruddekaayi ku bukulu, biwandiikiddwa mu Kitabo eky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka b'e Perusiya n'e Mediya. Moruddekaayi Omuyudaaya, ye yaddiriranga Kabaka Ahaswero mu kitiibwa, era yali mukulu mu Bayudaaya. Bayudaaya banne baamwagalanga, kubanga yakoleranga abantu be ebirungi, era ng'ayagaliza ab'eggwanga lye emirembe. Waaliwo omusajja mu nsi ya Wuzzi, erinnya lye Yobu. Omusajja oyo yali muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, assaamu Katonda ekitiibwa, era nga yeewala okukola ebibi. Yalina abaana ab'obulenzi musanvu, n'ab'obuwala basatu. Yalina endiga kasanvu, eŋŋamiya enkumi ssatu, n'emigogo gy'ente ezirima ebikumi bitaano, n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n'abaweereza bangi nnyo ddala. Omusajja oyo ye yali asinga obugagga mu bantu b'ebuvanjuba bonna. Batabani be baagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli omu ku bo mu mpalo, ne batumya bannyinaabwe abasatu, ne babayita okulya n'okunywa nabo. Ennaku ez'embaga zaabwe bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n'abatukuza. Yagolokokanga mu makya, n'aweerayo buli omu ku bo ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga yagambanga nti: “Oboolyawo abaana bange baliko ebibi bye baakoze, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga bulijjo. Awo olunaku lwali lumu, bannaggulu ne bajja okweyanjula mu maaso ga Mukama. Ne Sitaani naye n'ajjira mu bo. Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n'addamu Mukama nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n'okugitambulatambulamu.” Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali amwenkana ku nsi. Omusajja oyo ye muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, anzisaamu ekitiibwa, ne yeewala okukola ebibi.” Awo Sitaani n'addamu Mukama nti: “Yobu akussizaamu bwereere ekitiibwa? Omukoledde olukomera okumwetooloola, ye n'amaka ge, n'ebibye byonna by'alina. By'akola obiwadde omukisa, n'obugagga bwe bweyongedde obungi mu nsi. Naye kaakano golola omukono gwo omuggyeko byonna by'alina, ajja kukwegaana ng'olaba.” Mukama n'agamba Sitaani nti: “Kale byonna by'alina, biri mu buyinza bwo. Kyokka ye tomukolako kabi.” Awo Sitaani n'ava mu maaso ga Mukama. Awo olunaku lwali lumu, batabani ba Yobu ne bawala be, bwe baali nga baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, omubaka n'ajja eri Yobu n'agamba nti: “Ente bwe zibadde nga zirima, nga n'endogoyi ziziriraanye, zirya, Abasabeya ne bazizinda, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'agamba nti: “Omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, ne gwokya endiga n'ababadde bazirunda, ne gubazikiriza. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” Yali ng'akyayogera, omulala n'agamba nti: “Abakaludaaya, nga beegabanyizzaamu ebibinja bisatu, bazinze eŋŋamiya, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja n'agamba nti: “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, omuyaga ogw'amaanyi ne guva mu ddungu, ne gukuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwako, era bafudde. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” Awo Yobu n'asituka, n'ayuza ekyambalo kye olw'okunakuwala, n'amwa omutwe gwe, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Katonda. N'agamba nti: “Mu lubuto lwa mmange navaamu ndi mwereere, era ndifa ndi mwereere. Mukama ye yampa ebyo, era Mukama ye aggyeewo. Kale Mukama yeebazibwe.” Mu ebyo byonna ebyagwawo, Yobu teyayonoona, wadde okunenya Katonda. Awo olunaku lwali lumu nate, bannaggulu ne bajja okweyanjula mu maaso ga Mukama. Ne Sitaani n'ajjira mu bo okweyanjula mu maaso ga Mukama. Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n'addamu Mukama nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n'okugitambulatambulamu.” Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali amwenkana ku nsi. Omusajja oyo ye muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, anzisaamu ekitiibwa, era nga yeewala okukola ebibi. Era akyanywezezza obwesigwa bwe, newaakubadde nga wanzikirizisa okumuzikiririza obwereere.” Sitaani n'addamu Mukama nti: “Ekikwata ku lususu kye kikosa omuntu. Byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe. Naye kaakano golola omukono gwo, okwate ku magumba ge ne ku mubiri gwe, ajja kukuvuma ng'olaba.” Mukama n'agamba Sitaani nti: “Kale, ali mu buyinza bwo. Kyokka mulekere obulamu.” Awo Sitaani n'ava awali Mukama n'agenda, n'alwaza Yobu amayute amabi ennyo omubiri gwonna, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere. Yobu n'akwatanga oluggyo okweyaguza. N'atuulanga mu vvu. Awo mukazi we n'amugamba nti: “Era okyakuuma obwesigwa bwo? Wegaane Katonda, ofe.” Kyokka Yobu n'amugamba nti: “Oyogera ng'abakazi abasirusiru bwe boogera. Katonda by'atuwa, tunaayanirizanga bisanyusa byokka, ne tutayaniriza binyiga?” Mu ebyo byonna ebyagwawo Yobu teyayogera bubi ku Katonda. Awo mikwano gya Yobu basatu: Elifaazi Omutemani, Biludaadi Omusuuhi, ne Zafari Omunaamati, bwe baawulira emitawaana gyonna egimujjidde, bonsatule ne basalawo buli omu okuva ewuwe, ne bajja okumukaabirako n'okumukubagiza. Bwe baamulengera, ne balaba nga takyafaananika. Ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga. Ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala. Ne beeyiira enfuufu mu mitwe, era nga bwe bagimansa waggulu. Ne batuula wamu naye ku ttaka emisana n'ekiro, okumala ennaku musanvu, nga tewali ayogera naye kigambo, kubanga baalaba okubonaabona okungi kwe yalimu. Ebyo bwe byaggwa, Yobu n'atandika okwogera, n'akolimira olunaku lwe yazaalirwako. Yobu n'agamba nti: “Olunaku kwe nazaalirwako luzikirire, n'ekiro ekyagamba nti omwana ow'obulenzi ali mu lubuto. Lube lwa kizikiza olunaku olwo; Katonda mu ggulu alwerabire, n'enjuba ereme okwakirako. Ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte biruyite olwabyo. Ekire kirubikke. Lutiisibwe ebyo byonna ebiddugaza obudde. Ekiro ekyo kivumbagirwe ekizikiza ekikutte. Kiggyibwe mu nnaku z'omwaka; kireme na kubalirwa mu mwezi. Ddala ekiro ekyo kibe kya bugumba; kireme kuwulirwamu basanyuka. Kikolimirwe abo, abakolimira obudde; era abasobola okusaggula goonya. Emmunyeenye z'amakya gaakyo zireme okulabikako. Ekitangaala kye kisuubira, kibule, kireme kulaba ku mmambya. Kubanga mmange tekyamufuula mugumba, ne kireka ndabe ennaku eno endaaza! Lwaki saafiirawo nga nzaalwa, olwava mu nda ya mmange ne nzisa ogusembayo? Lwaki nalererwa ku maviivi? N'amabeere lwaki gannyonsa? Kubanga bwe nandifudde nandisirise; nandyebase, nandiwummudde wamu ne bassekabaka n'abafuzi b'ensi, abeezimbira obuggya embiri mu matongo. Nandyebase wamu n'abalangira abajjuza ennyumba zaabwe zaabu ne ffeeza. Singa naggyibwawo ng'omusowole, oba okuziikibwa ng'omwana azaalibwa ng'afudde, atalaba ku kitangaala. Eyo mu ntaana ababi, bakoma okuteganya abantu, era eyo, abalungi gye bawummulira. Eyo n'abasibe bassa ku mukka; ne batawulira abatulugunya. Omuto n'omukulu bali eyo; n'omuddu tafugibwa mukama we. “Abantu abali mu nnaku balabira ki ekitangaala? N'abo ababonaabona babeerera ki abalamu? Beegomba okufa, ne kubeesamba; ne bakunoonya okukira abawuukuula obugagga obukwekeddwa. Basanyuka nnyo nnyini ne bajaguza bwe bafa, ne bateekebwa mu ntaana. Omuntu akwekeddwa ekkubo lye Katonda gw'akolako olukomera? Kubanga okusinda ye mmere yange; okusindogoma okwange tekukoma. Kye ntya kye kinzijira, n'ekinkanga kye kingwira. Siweerako, sirina mirembe, siwummula, Mitawaana gye gijja!” Awo Elifaazi Omutemani n'ayanukula Yobu nti: “Omuntu bw'anaayogerako naawe kinaakukola bubi? Naye ani ayinza okwefuga n'atabaako ky'ayogera? Wayigirizanga bangi, era wagumyanga abanafu. Eyeesittala wamubuuliriranga, n'aguma alemenga kugwa. Kati kituuse ku ggwe, n'ozirika; okwatiddwako, ne weeraliikirira. Katonda wamusinzanga n'oba mwesigwa gy'ali. Wali muntu mwesimbu. Ekyo tekikuwa ssuubi? “Naawe sooka wejjukanye: ani yali asaanyeewo nga tazzizza musango? Era walaba wa omwenkanya azikirizibwa? Nze ndabye abafaabiina ng'omulimi bw'akabala. Ne bategeka ennimiro, ne bagisigamu ebyonoono awamu n'emitawaana. Era ebyo bye bakungulamu. Katonda abassiza omukka ogw'obusungu bwe, Obuli nga kibuyaga, n'abazikiriza. Abantu ababi bawuluguma ng'empologoma enkambwe. Naye amannyo gaazo gamenyebwa. Bafa ng'empologoma ezitalina kye zitta kulya, Abaana baabwe ne basaasaana. “Olumu nafuna obubaka, nga buli nga kaama ka mu kutu. Nali mu birowoozo eby'ekirooto ky'omu kiro; mu tulo otungi otukwata abantu. Entiisa n'okukankana ne binkwata. Amagumba gange ne ganyeenyezebwa. Omuzimu gwampita awo mu maaso. Enviiri zanva ne ku mutwe! Gwayimirira buyimirizi, naye ne sigwekkaanya. Ekifaananyi kyandi mu maaso, nga wonna kasiriikiriro. Ne mpulira eddoboozi nti: ‘Omuntu alifa, asinga Katonda obutuukirivu? Era aliba omulongoofu okukira eyamussaawo? Wadde abo abamuweereza mu ggulu tabeesiga n'akatono. Bamalayika be abanenya olw'ensobi zaabwe. Alabisa kale abantu abaakolebwa mu nfuufu? Ababetenteka amangu okusinga n'ekiwuka! Okuzikirira kwabwe tekutwala na bbanga: Okuva ku makya okutuusa akawungeezi, baggwaawo ne batajjukirwa. Balifa tebannaba bagezi. Byonna bye babadde nabyo ne bitwalibwa abalala.’ “Kaakano koowoola, anaakuyitaba ye ani? Onookyukira malayika ki nti: ‘Nnyamba?’ Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru; N'okukwatibwa obuggya, kutta abatalina magezi. Nalaba omusirusiru nga munywevu. Naye amangwago ne nkolimira ekifo mw'abeera. Abaana be baba mu kabi, babetenterwa mu mulyango. Era tewaba abawonya. By'akungula biriibwa abayala, ne baggyayo n'ebiri eyo mu maggwa. Obugagga bwe bwegombwa ababululunkanira. Kubanga Obuyinike tebusibuka mu nfuufu. Ne mu ttaka, si mwe muva obunaku. Naye abantu bazaalirwa kubonaabona, ng'ensasi z'omuliro bwe zimansukira mu bbanga. “Naye nze ku bwange, nandyebuuzizza ku Katonda, Oyo gwe nandyanjulidde ensonga. Ye akola ebikulu ebitategeerekeka, N'ebyamagero ebitabalika. Atonnyesa enkuba ku nsi, N'afukirira ennimiro. Abeetoowaza abagulumiza. Akubagiza abanaku, n'abatuusa ku ddembe. Afumya enkwe z'abakalabakalaba; zikoma ne zigwa butaka. Akwasa abagezi mu bugezigezi bwabwe. Era akomya mangu okuteesa kw'abalina enkwe. Baba mu kizikiza emisana, ne bawammanta mu ttuntu ng'ekiro. Naye Katonda awonya abanaku ekitala ky'akamwa k'abakambwe. Abali mu bwetaavu abawonya okunyigirizibwa ab'amaanyi. Olwo abaavu ne baba n'essuubi, ababi ne bataddayo kunyega. “Omuntu Katonda gw'agolola mazima aba wa mukisa. Kale tonyooma kukangavvulwa Muyinzawaabyonna. Ye anyiga ebiwundu by'afumise. Engalo ze ezikuba, ze ziwonya. Mu buli buyinike akuwonya, Bulijjo n'otobaako kabi. Anaakuwonyanga okufa ng'enjala egudde. Mu lutalo n'akuwonya okuttibwa ekitala. Anaakuwonyanga abakuwaayiriza. Tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga. Onoosekereranga enjala era n'okuzikirira, n'ensolo z'omu ttale n'otozitya. Kubanga mu nnimiro yo temuubenga mayinja; n'ensolo z'omu ttale teziikulumbenga. Oneekakasanga nti mu nnyumba yo oli mirembe; era ne wekkaanya nti ensolo z'omu ggana lyo tekuliiko ekubuze. Era oneekakasanga nti bazzukulu bo ba kwala, n'ezzadde lyo liryeyongera obungi ng'omuddo ogw'oku ttale. Olifa n'oteekebwa mu ntaana ng'omaze okuwangaala, ng'eŋŋaano gye bakungudde n'ereetebwa ewuulwe. Ebyo twabinoonyereza, ne tulaba nga bya mazima. Biwulire obimanye, obiggyemu omugaso.” Yobu n'ayanukula n'agamba nti: “Singa bapima okweraliikirira kwange, n'ennaku yange n'essibwa ku minzaani, Omusenyu gw'ennyanja byandigukize obuzito. Bye njogedde n'olwekyo namaze gabyanguyira. Kubanga obusaale bw'Omuyinzawaabyonna bunnyingidde mu mubiri. Obusagwa bwabwo bumbunye. Katonda by'alina eby'entiisa yabiggyayo bisimbe ennyiriri okunzigulako olutalo. “Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente ye eŋooŋa awali emmere yaayo? Ekitaliimu nsa kiriika nga tokirunzeemu munnyo? Omuntu afuna ssanyu ki mu kulya ekitawooma? Saagala mbiryeko ebyo, ku nze kumpi gwe muziro. “Singa nfuna kye nsaba, Katonda n'ampa kye neegomba: Katonda asiime ambetente nze. Ankube anzite nveewo! Ekyo kyandinkubagizza, olwo nandibadde njaganya, Nga sisaasirwa olw'okulumwa. Kubanga sigaananga Omutukuvu by'alagira. Amaanyi ge nnina galuwa nnyongere okuba omulamu? Ye obulamu bungasa ki obutalina ssuubi? Ndi mugumu nga mayinja? N'omubiri gwange gwa kikomo? Nkyalina ageeyamba, Nze atakyalina kye nsobola? “Aterebuse agwana okuyambibwa banne, Ne bw'aba yeegaanye Omuyinzawaabyonna. Baganda bange balimba ng'akagga akateesigwa. Bali ng'obugga obulabibwamu amazzi, ate oluvannyuma ne bukalira; Obuddugazibwa amazzi agakutte, era obwekwekebwamu omuzira. Olubuguma ne bukalira. Omusana olwakako, tobulabako. Abatambuze bakyama nga babunoonya. Batambulatambula mu ddungu ne bazikirira. Abatambuze b'e Tema baabutunuulira. N'abatambuze b'e Seeba baabulinamu essuubi. Baaswala, kubanga baabwesigira bwereere. Bwe baabutuukako ne basoberwa. Nammwe bwe mutyo bwe munfuukidde: Kubanga mulaba ndi mu kabi ne mutya. Mbagambye nti: ‘Mumpe ekirabo?’ Oba nti ‘Mutoole ku byammwe muweeyo enguzi ku lwange?’ Oba nti: ‘Mumponye omulabe?’ Oba nti: ‘Munzigye mu mikono gy'abannyigiriza?’ “Ka nsirike mumpabule; Muntegeeze kye nasobya. Ebigambo ebituufu bimatiza. Naye empaka zammwe zingasa ki? Mwagala okunnenya olw'ebigambo ebiri ng'empewo bye njogedde nga sirina ssuubi? Mwandikubidde ne mulekwa akalulu okumufuula omuddu? Mwandiramuzizza ne munnammwe mumufunemu amagoba? Kale kaakano muntunuulire, kubanga siibalimbe nga mulaba. Mbasaba muddemu mwerowooze muleme kunsibako kibi. Muddemu mwerowooze, ensonga zange ntuufu. Nnina ekikyamu kye njogedde? Siyinza kwawula kirungi na kibi? “Obulamu bw'omuntu buba bwa kukuluusana ku nsi. Buba ng'obw'abakolera empeera. Ng'omuddu bwe yeegomba okuwummula mu kisiikirize, era ng'omupakasi bw'asuubira empeera ye, nange bwe ntyo bwe nagabana emyezi gye sifunamu mugaso, n'obudde bw'ekiro bwanteerwawo, bumbuzeeko obuwummuliro. Bwe ngalamira ne nneebuuza nti: ‘Okugolokoka kwa ddi?’ Naye ekiro tekiggwaako! Nsula nkulungutana okukeesa obudde. Omubiri gwange gujjudde envunyu n'obujama. Olususu lwange luyulika ne lufulumya amasira. Ennaku zange ziri ku misinde okusinga n'ewuzi ey'oyo atungisa ekyalaani. Ziggwaako nga tewali ssuubi. Jjukira nti obulamu bwange mukka. Amaaso gange tegaliddayo kulaba birungi Eriiso erintunulako teririddayo kundabako. Amaaso bwe galinnoonya ndiba nabuzeewo dda. “Ng'ekire bwe kiggwaawo ne kibula, bw'atyo n'akka emagombe eyo tagenda kwambuka aveeyo. Takomawo nate mu maka ge. N'abo be yabeeranga nabo bamwerabira. Kale kaakano siisirike, ka nsinde obuyinike bwange, njogere ennaku endi ku mwoyo. Ndi nnyanja, oba kikulejje ky'omu nnyanja, olyoke onteekeko abankuuma? Bwe njagala ekitanda kimpeezeeko, n'obuliri bwerabize ku kwemulugunya kwange, n'ontiisiza mu birooto ng'ondagiramu ebinkanga! Ne nsiima okutugibwa nveewo okusinga lwe mba amagumba gano. Neetamiddwa obulamu siribeerawo nnaku zonna. Ndeka, kubanga obulamu bwange bwa kaseera buseera. Omuntu ataliiko bw'ali lwaki omussaako omwoyo, n'omwekebejja buli nkya, n'omugeza buli kaseera? Olituusa wa obutanzigyako maaso, n'obutandeka kumala kumira ku ddusu lyange? Bwe mba nkoze ekibi nkukolako kabi ki ggwe alabirira abantu? Onnondoolera ki ne ntuuka n'okwezitoowerera? Kale lwaki tonsonyiwa buli kye nsobya kyonna, n'oggyawo ekibi kyange? Kubanga kaakano nja kufa ngalamire mu nfuufu. Era bw'ononnoonya nja kuba sikyaliwo.” Awo Biludaadi Omusuuhi n'addamu ng'agamba nti: “Onootuusa wa okwogera ebigambo ebyo ebiri ng'empewo ey'amaanyi? Katonda asaliriza ensonga? Omuyinzawaabyonna awa ensala eteri ntuufu? Abaana bo baakola ekibi ne bamunyiiza, kyeyava ababonereza olw'ekibi kyabwe. Bw'okkiriza okugondera Katonda, ne weegayirira Omuyinzawaabyonna, era bw'onooba omulongoofu era omwesimbu, taaleme kusituka n'akuyamba, n'akuddizaawo amaka go agakusaanidde. Wadde byali bitono bye walina mu kusooka, naye eby'oluvannyuma biryeyongera nnyo obungi. “Nkusaba weebuuze ku b'emirembe egy'edda; weetegereze n'ebyo bajjajjaabwe bye baazuula. Kubanga ffe tuli ba jjo tetuliiko kye tumanyi. N'ennaku ze tumala ku nsi, ziyita nga kisiikirize. Kale ab'edda abo tebakuyigiriza ne bakutegeeza, ne bakuggyirayo bye bamanyi? Ekitoogo kiyinza okukula awatali lutobazzi? N'olumuli luyinza okumera awatali mazzi? Amazzi bwe gakalira ne bwe biba tebitemeddwa, bye bisooka ebimera ebirala byonna okuwotoka. N'abeerabira Katonda bwe batyo bwe baba. N'oyo atatya Katonda taba na ssuubi. Kye yeesiga kikutuka nga wuzi; n'ekimuyinula kiba nga ntimbe za nnabbubi. Yeesigama ku nnyumba ye n'etemuwanirira. Aginywererako kyokka n'eteguma. Ali ng'ekimera ekifukirirwa ku makya ng'omusana tegunnayaka. Amatabi ge ne galanda okubuna mu nnimiro. Emirandira gye gisensera mu ntuumu z'amayinja, ne gyekwata ku buli jjinja. Bw'akuulibwa mu kifo ekyo kimwegaana nti: ‘Sikulabangako.’ N'essanyu ly'omubi bwe liba. Kubanga wajjawo abalala ne badda mu kifo mw'abadde. “Kale nno Katonda talyabulira muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era taliyamba bakola bibi. “Ddaaki alikujjuza obuseko, era okube obukule. Abakukyawa baliswala, n'ennyumba z'ababi zirisaanyizibwawo.” Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: “Mazima mmanyi nga bwe kityo bwe kiri. Naye omuntu ayinza atya okuwoza ne Katonda n'asinga? Bw'ayagala okuwoza naye, Katonda ayinza okubuuza ebibuuzo olukumi, omuntu n'atayinza kumuddamu na kimu. Katonda mugezi era wa maanyi. Ani amuwakanya n'asinga? “Asiguukulula ensozi nga talina gw'abuulidde, mu busungu bwe n'azisaanyaawo. Aleeta okukankana kw'ensi wansi ne wayuuguuma, n'akankanya empagi z'ensi. Alagira enjuba nti: ‘Tovaayo!’ Emmunyeenye azibikkako ne zitayaka. Ye abamba eggulu obw'omu, ye akkakkanya amayengo g'ennyanja. Yawanga emmunyeenye ku ggulu eziyitibwa Eddubu, Omuyizzi ne Kakaaga, n'ez'omu bukiikaddyo. Akola ebikulu ebitategeerekeka n'ebyamagero ebitabalika. Kale ampitako ne simulaba. Yeeyongerayo, kyokka ne simwetegereza. Bw'atwala ekintu olw'amaanyi ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamubuuza nti: ‘Okola ki?’ Obusungu bwa Katonda tebukoma. Awangula abalabe be, abayambi ba Rahabu. “Kale nnyinza ntya okuzuula ebigambo eby'okuwoza naye nga neetaasa? Wadde siriiko kye nvunaanibwa, siyinza kwewolereza. Wabula omulamuzi wange gwe neegayirira ansaasire. Ne bwe nandimuyise okujja okuwoza n'akkiriza, sandikkirizza nti awulidde kye ŋŋamba. Ankubisa kibuyaga, n'annyongera ebiwundu awatali nsonga. Taŋŋanya kussa ku mukka, wabula ambonyaabonya. Bwe kuba kwegera maanyi, ye ye agansinza. Bwe kuba kuwoza musango, ani ananteerawo obudde obw'okuguwulira? Wadde siriiko kye nvunaanibwa, bye njogera bigunsalira okunsinga. Wadde nga sirina musango, ajja kulaga bwe ndi omukyamu. Siriiko kye nvunaanibwa naye neetamiddwa obulamu. Byonna kye kimu. Kyenva ŋŋamba nti azikiriza abataliiko kye bavunaanibwa n'abakola ebibi. Akabi bwe kagwa ne kattirawo abantu, akudaalira abataliiko kye bavunaanibwa, ababonaabona. Katonda yawaayo ensi mu mikono gy'ababi. Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo. Oba si Katonda, kale ani? “Ennaku zange ziri ku misinde okusinga n'omuddusi. Ziggwaako nga sizifunyeemu kalungi Ziyise ng'amaato ag'embiro ng'empungu ekka ku muyiggo gwayo. Bwe ŋŋamba nti: ‘Ayi Katonda, ka neerabire okwemulugunya kwange, mmweenyeeko nsanyuke,’ ne nzijirwa okutya obuyinike bwange, kubanga mmanyi taligamba nti siriiko kye nvunaanibwa. Omusango nga bwe gunansinga, kale nteganira ki obwereere? Ne bwe nnaanaaba amazzi ag'omuzira ne ntukuza engalo zange ne sabbuuni, era ononsuula mu kinnya ekijama n'engoye zange ne zintamwa. Kubanga singa Katonda abadde muntu buntu nga nze, nandimwanukudde, ne mpoza naye. Naye tewali mulamuzi wakati waffe, anaatuwozesa n'atusalirawo. Katonda alekere awo okunkubya omuggo gwe; aleme okunkanga n'okuntiisa. Katonda nga bw'antiisizza, siyinza kwennyonnyolako nga bwe nandyagadde. “Neetamiddwa obulamu! Nja kwemulugunya lwatu, njatule ennaku endi ku mwoyo. Nja kugamba Katonda nti: ‘Tonsalira musango kunsinga. Naye mmanyisa ky'onvunaana. Olaba nga kirungi okukambuwala n'okunyooma ggwe wennyini bye watonda, n'osanyukira amagezi g'ababi? Ggwe ebintu obiraba ng'omuntu bw'abiraba? Oba obitegeera ng'abantu bwe babitegeera? Ennaku z'owangaala ziri ng'ez'abantu abafa? Oba emyaka gy'obulamu bwo giri ng'egy'omuntu? Lwaki oyagala okubuuliriza ku bibi byange, n'okunoonyereza ku kwonoona kwange? Newaakubadde omanyi nga siriiko kye nvunaanibwa, tewali ayinza kumponya ng'anzigya mu mikono gyo. “ ‘Ggwe wennyini ggwe wammumba n'emikono gyo n'onteekawo. Ate kaakano onkyukidde okunsaanyaawo. Jjukira nga wammumba mu bbumba. Ononsekula onzizeeyo mu nfuufu? Tewanjiwa ng'amata mu lubuto lwa mmange, n'ommumba ng'ekitole ky'omuzigo? Wataba amagumba gange n'ebinywa n'ogabikkako ennyama n'olususu. Wampa obulamu era n'onjagala. Olabiridde bulungi obulamu bwange. “ ‘Naye waliwo bino bye wakweka nga bya kyama. Mmanyi nga wali obitegeka okuntuukako. Bwe nkola ekibi, onneetegereza, Era tolikinsonyiwa. Bwe mba omubi nga zinsanze! Bwe nkola ekituufu nkoteka omutwe gwange ne nzijula okuswala, ne nnyenjebuka olw'okubonaabona. Bwe nkola eky'okwenyumiririzaamu obeera ng'empologoma n'onjigga. Okola n'ekyamagero okunnumya. Onnumba buggya okumbonyaabonya. Weeyongera okunsunguwalira. Onsindikira amagye mu bibinja n'ebibinja. “ ‘Kale lwaki waleka ne nzaalibwa? Nandifudde nga tewannaabawo n'omu andabako. Olwandivudde mu lubuto ne banziikirawo, ne mba ng'atabangawo. Obulamu bwange tebusigazizzaayo ennaku ntono? Ndeka nsanyukemu akatono, nga sinnagenda mu nsi eyo ey'ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte gye sigenda kuva. Ensi ey'ekisiikirize n'obutabangufu ekitangaala gye kiri ng'ekizikiza.’ ” Awo Zofari Omunaamati n'addamu ng'agamba nti: “Ebigambo ebingi bwe bityo tebisaanye kuddibwamu? Okwogera ebingi kye kyejjeereza omuntu? Okwenyumiriza kwo kunaasirisa abalala? Bw'okudaala bw'otyo tewaabe n'omu akuwemuukiriza? Kubanga ogamba nti: ‘By'okkiriza bye bituufu, era nti Katonda alaba nti toliiko ky'ovunaanibwa.’ Naye nandyagadde Katonda ayogere naawe butereevu. Akubuulire eby'amagezi ebikisiddwa, ebitamanyika kuggwaayo. Kale manya nti Katonda akubonereza kitono okusinga bw'osaanira. “Oyinza okunoonyereza ebifa ku Katonda Omuyinzawaabyonna, n'obizuula n'obimalayo? Bigulumivu okusinga eggulu. Oyinza kukola ki? Bikka wansi okusinga emagombe, oyinza otya okubimanya? Bw'obipima bisinga ensi obunene, n'ennyanja bigisinga obugazi. Katonda bw'ajja n'asiba abantu mu kkomera, n'abayita okusalirwa omusango, ani ayinza okumuziyiza? Katonda amanyi abantu abataliiko kye bagasa. Bw'alaba ebibi bye bakola tabifaako? Bw'erizaalibwayo entulege enteefu n'abasiru balitandika okutegeera. “Bw'oneenenya mu mutima gwo, onoogololera emikono gyo eri Katonda. Bw'oba n'ebikyamu by'okola obyewale. Oleme kukkiriza bibi kubeeranga mu maka go. Onootunulanga nga teweebwalabwala. Onoobanga n'emirembe nga tolina ky'otya. Kubanga olyerabira ennaku yo, nga bwe weerabira amazzi agakulukuse ne gagenda. Obulamu bwo bulyakaayakana okusinga omusana ogw'ettuntu. Ekiseera kyabwo eky'ekizikiza kirifuuka ekitangaala eky'oku makya. “Onoobanga n'emirembe olw'okuba n'essuubi. Katonda anaakukuumanga n'owummula nga tolina ky'otya. Oneebakanga nga tewali akutiisa. Bangi banaakusabanga obuyambi. Naye ababi banaamagamaganga, ne babulwa obuddukiro. Essuubi lyabwe liri mu: Kufa.” Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: “Kya mazima mmwe ddoboozi ly'abantu. Bwe mulifa, abagezi baliggwaawo. Naye nange ntegeera nga mmwe temunsinganga n'akatono. Era ani atamanyi ebyo bye mubadde mwogerako. Nsekererwa mikwano gyange, nze eyasabanga Katonda n'anziramu. Nze omuntu akola ekituufu, ataliiko kye nvunaanibwa, kaakano nsekererwa abantu. Atannalaba nnaku, asekerera ajeera. Abonaabona era ye ajjirwa ebizibu. Amaka g'abanyazi gaba bulungi, n'abo abanyiiza Katonda tebalina babatiisa. Amaanyi gaabwe ge beesiga nga Katonda. “Naye nno buuza ebisolo binaakuyigiriza, n'ebinyonyi binaakubuulira. Oba yogera n'ensi, eneekuyigiriza n'ebyennyanja binaakunnyonnyola. Mu bitonde byonna ebyo, ekitamanyi kiruwa nti ebibeerawo byonna bikolebwa Mukama? Buli kintu ekiramu kiri mu mikono gye. Obulamu bw'abantu nabwo ye abufuga. Omuntu by'awulira tayawulamu bituufu na bitali bya mazima, nga bw'alya ku mmere n'ayawula ewooma n'etewooma? Amagezi gaba na bakadde, n'okutegeera kuba mu bawangadde. “Katonda ye alina amagezi n'obuyinza, ye alina entegeka n'okutegeera. Katonda ky'amenya, tewali akizimba buggya. Katonda gw'aggalira, tewali amuggulira. Bw'aziyiza enkuba okutonnya, wabaawo ekyeya. Bw'agireka n'etonnya, omujjuzi gw'amazzi ne gubikka ensi. Ye w'amaanyi era omuwanguzi. Alimbibwa n'oyo alimba bali mu buyinza bwe. Abafuzi b'ensi abamalamu amagezi. Abalamuzi abafuula abasirusiru. Ayambula bakabaka ebyambalo ebyekitiibwa, n'abasiba enkoba ezisibibwa abaddu. Bakabona abamalamu amagezi, abafuzi abaggya mu buyinza. Asirisa abo abantu be beesiga, n'abakadde abaggyako okutegeera. “Aleka abakungu okunyoomebwa, ab'obuyinza abamala amaanyi. Ayolesa ebikusike eby'ebuziba, amulisa ebikweke mu nzikiza. Akulaakulanya amawanga ate n'agazikiriza. Agafuula ag'amaanyi, ate n'agasaanyaawo. Abafuzi b'abantu abafuula abasiru, n'ababungeeseza eyo awatali kkubo mu ddungu. Bawammantira mu kizikiza ekikutte ennyo, n'abaleetera okutagatta ng'abatamiivu. “Kale ebyo byonna nabiraba, era nabiwulira dda ne mbitegeera. Bye mumanyi mmwe, era nange mbimanyi temunsinga. Naye njagala njogere na Muyinzawaabyonna. Katonda gwe njagala okulaga nti siriko kye nvunaanibwa. Kyokka mmwe mwogera bya bulimba okukweka amazima. Muli basawo abatasobola kuwonya. Singa musirikidde ddala lwe mwandiraze bwe muli abagezi. “Muwulirize kye ŋŋamba. Mutege amatu muwulire empoza yange. Munaawolereza Katonda nga mwogera ebitali bituufu, era nga muleeta eby'obulimba? Munaasaliriza ku lulwe, muwoze omusango gwe asinge? Binaabagendera bulungi bw'anaabakebera okubekkaanya? Munaamulimbalimba ng'abantu bwe balimbalimba bannaabwe? Taaleme kubavunaana ne bwe munaakweka okusaliriza kwammwe. Ekitiibwa kye tekiibatiise, ne kibakwasa ensisi? Engero zammwe tezigasa: ziri nga vvu. N'empoza yammwe temuli: emulungulwa nga bbumba. “Musirike, muleke nze njogere. Ebinanzijira, binzijire. Ka nneeveemu mpeeyo n'obulamu! Oba anzita anzite, kiki kye nkyasuubirayo? Kyokka nja kuwoleza mu maaso ge. Era ekyo kye kinandokola. Kubanga atassaamu Katonda kitiibwa tayimirira mu maaso ge. “Muwulirize ebigambo byange, mutegereze bye ŋŋamba. Kale nsengese empoza yange, mmanyi nja kwejjeerera. Ani anannumiriza omusango? Neetegese bwe guba gunsinze, okusirika era nfe. Ompeeyo ebintu bibiri byokka olwo nneme kukwekweka. Okumbonereza lekera awo era oleme okunkanga n'okuntiisa. Kale ggwe sooka ompite, nze mpitabe. Oba oleke nze njogere, ggwe onziremu. Ensobi zange n'okuwaba kwange bye biruwa? Ntegeeza obujeemu bwange n'ekibi kyange. “Lwaki onneekweka n'ompita omulabe wo? Onootiisa nze akakoola akatwalibwa embuyaga? Oyigganye nze akasasiro akakaze? Onnumiriza emisango eminene n'ogiwandiika. Onvunaana ensobi ez'omu buvubuka bwange. Osiba ebigere byange mu nvuba. Olondoola buli kigere kye nsitula, olamba buli we nninnya. Naye nseebengerera ng'ekintu ekivunda ne kiggwaawo, oba ng'ekyambalo ekiriibwa ennyenje. “Buli muntu azaalibwa mukazi. Obulamu bwe buba bumpi, Era buba bwa bugubi. Akula n'awotoka ng'ekimuli. Abulawo nga kisiikirize, tasigalawo n'akatono. Kale ggwe otunuulira omuntu ali bw'atyo? N'oleeta nga nze mu maaso go onsalire omusango? Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali n'omu. Wasalirawo dda omuntu ennaku z'aliwangaala. Wamugerekera n'emyezi, n'opimira ddala ebbanga ly'atayinza kusussaawo. Kale muggyeeko amaaso omuleke awummuleko, alyoke amaleko olunaku lwe ng'omupakasi akolera empeera. “Bwe batema omuti, wabaawo essuubi nti ku kikonge kyagwo kunaaloka ettabi, era teriife. Wadde emirandira gyagwo gikaddiyira mu ttaka ekikonge kyagwo ne kivunda, bwe gutuukibwako amazzi, gulisibuka ne guleeta amatabi ng'ekisimbe ekiggya. Naye omuntu afa, n'aggweeramu ddala obulamu. Bw'assa ogw'enkomerero, aba akyali ludda wa? Ng'ennyanja bw'eggwaamu amazzi era ng'omugga bwe gukalira, bw'atyo n'omuntu afa, n'agalamira obutayimuka. Ng'eggulu likyali mu bbanga talizuukuka n'akatono. Talizuukusibwa mu tulo twe. “Singa onkwese emagombe n'onkuumira eyo, okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo. Era n'ongerera ekiseera n'onzijukira. Omuntu bw'afa, addamu obulamu? Naye nze ekiseera kyonna nandirinze okutuusa lwe nanditeereddwa. Olwo wandimpise nze ne mpitaba. N'osanyukira nze ekitonde kyo. N'olabirira buli kigere kye nsitula. Naye n'oteekaliriza bibi byange. Olibinsonyiwa n'obisibira mu nsawo. Olibikkako ebisobyo byange. Naye era n'ensozi zigwa ne ziseebengerera, n'olwazi luggyibwa mu kifo kyalwo. Amazzi gaggweereza amayinja, ne mukoka akuluggusa ettaka. Naawe bw'otyo bw'ozikiriza essuubi omuntu ly'aba nalyo. Ojja n'omusinza amaanyi n'omuggyirawo ddala. N'ofaafaaganya entunula ye mu kufa. Batabani be batuuka ku kitiibwa ye nga takimanyi. Era bwe batoowazibwa ye tategeera bwe bali. Awulira bulumi buli mu ye, era yeekungubagira yekka.” Awo Elifaazi Omutamani n'addamu ng'agamba nti: “Ow'amagezi taddamu na bigambo bitalina makulu. Tayogera bigambo biri nga mpewo buwewo. Tawalaaza mpaka zitalina mugaso. Tayogera bigambo bitavaamu kalungi. Ojja kuziyiza abantu okussaamu Katonda ekitiibwa, n'okugenda mu maaso ge okumusinza. Ebibi byo ye nsibuko y'ebyo by'oyogera. Era okozesa lulimi lwa bukumpanya. Akamwa ko ke kakusalira omusango okukusinga, sso si nze. Emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza. “Abantu bonna ogamba ggwe wabasooka okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ng'ensozi tezinnabaawo? Wawulirizaako ggwe Katonda bye yateesa mu kyama? Ggwe wageziwala wekka omu? Kiki ky'omanyi kye tutamanyi? Otegeera biki ebyatulema? Ffe tuli wamu n'ab'envi n'abakadde ennyo, abakulu n'okusinga kitaawo. Katonda by'anaakukolera okukugumya by'ogaya nti tebimala? N'ebigambo ebikkakkamu bye tukubuulira ku lulwe by'onyooma? Lwaki ocamuukiridde? Lwaki otunuza bukambwe, n'osunguwalira Katonda n'oyogera ebiri ng'ebyo? Omuntu ayinza okuba omulongoofu? Ani eyazaalibwa omukazi Katonda gw'abala nti mutuufu? Olaba Katonda teyeesiga wadde bamalayika be! N'eggulu si ddongoofu mu maaso ge. Alabisa kale omuntu omwonoonefu era entagasa, eyeekatankira ebyonoono nga bw'anywa amazzi! “Ntegera amatu njogere, nze nkubuulire bye ndabye; n'abagezi bye boogedde nga babiggya ku bajjajjaabwe, abaaweebwa ensi eno bokka nga tebali wamu na bagwira. Omubi ateganyizibwa ennaku zonna. Oyo anyigiriza abalala, abonaabona obulamu bwe bwonna. Awulira mu matu ge amaloboozi ag'entiisa. Lw'afunyeeko akalembereza lw'alirumbibwa abanyazi. Tasuubira kuva mu kizikiza. Era okuttibwa kw'alindirira. Abungeeta anoonye k'anaalya nga yeebuuza gy'anaakaggya. Amanyi nti olwa kazigizigi kati lumukeeredde. Ennaku n'obuyinike bimutiisa nga kabaka ow'amaanyi bw'atiisa be yeeteeseteese okulumba. Kubanga agalulidde Katonda ekikonde ky'amufunyidde, n'asoomoza Omuyinzawaabyonna. Abulira mu ngabo ye ennene, agende amulumbagane. Kubanga mugevvu mu maaso n'emabega agezze akabina. Era abeera mu bibuga ebisengukiddwamu. Ennyumba asula mu bifulukwa ebisuliridde okugwa. Obugagga bwe buliyita buyisi, talimala nabwo kiseera kiwanvu. Naye yennyini taliwangaala. Walumbe alimwefuga mu kizikiza. Aliba ng'amatabi g'omuti agababuddwa omuliro, n'ebimuli byagwo ebitwalibwa embuyaga. Bwe yeesiga ebitalina mugaso aba yeerimba, kubanga alisasulwamu ebyo. Alikala mangu ng'ettabi, n'ataddamu kuggumiza. Aliba ng'omuzabbibu ogukunkumula ebibala byagwo ebitannaba kwengera; era ng'omuzayiti ogukunkumula ekimuli. Kubanga abatassaamu Katonda kitiibwa banaabeeranga bagumba. Era omuliro gunaayokyanga amayumba ge baggya mu kulya enguzi. Bakola bya kabi ebiva mu ttima lyabwe. Bajjudde bukuusa.” Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: “Mpulidde bingi ebiri ng'ebyo. Kale olwo munkubagizizzaamu ki? Emboozi eyo etegasa munaagikomya wa? Ye kiki ekikusosonkereza okunnyanukula bw'otyo? Nange nandisobodde okwogera nga mmwe bwe mwogedde, singa mmwe muli mu mbeera eyange gye ndimu bwe nti. Nandiboogeredde amafuukuule nga bwe nnyeenya n'omutwe mu bunyoomi. Nandyogedde ebinaabagumya nzikakkanye ku buyinike bwammwe. “Naye okwogera ne bwe njogera obulumi bwange tebukendeera. Era ne bwe nsiriikirira mpeeraweerako kenkana wa? Ddala, ayi Katonda, ommaze amaanyi, N'abange bonna obasaanyizzaawo! Ggwe okunvumbagira kye kinnumiriza. N'obukovvu bwange, abantu kwe basinziira okukakasa nti gunsinze. Katonda, mu busungu bwe, antaagudde era ankyaye. Annumidde obujiji. Yeefudde omulabe wange, n'ankanulira amaaso! Abantu bantunuulidde nga basamaaliridde. Bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama. Katonda ampaddeyo eri ababi. Ansudde mu mikono gy'aboonoonyi. Nali nteredde wamu, n'ajja n'angabanyaamu. Yankwata ku nsingo, n'ankuba ekigwo wansi. Antaddewo ng'ekintu ky'akubirako sabbaawa. Abalasa obusaale bwe, banneetoolodde. Ayasaamu ensigo zange nga tasaasira n'akatono, n'ayiwa endulwe yange ku ttaka. Anfubutukira ng'omulwanyi mu lutalo n'ammenyaamenya buli nnyingo. Neetungidde ekikutiya ky'abakungubazi ne nkyeteeka ku mubiri. Nzigweddemu amaanyi ne ngalamira mu nfuufu. Okukaaba ennyo amaziga kunfumizza entunula. Amaaso gazimbye ebisige ne gajjako ekifu. Sso nga sikolanga bukambwe, era nsinza bulungi Katonda. “Ayi ggwe ensi togaana musaayi gwange kululuma; n'omulanga gwange guleme kusirisibwa. Ne mu kaseera kano mu ggulu eriyo anjulira, waggulu ampolereza tabuzeeyo. Mikwano gyange bannyooma. Naye eri Katonda gye nzirukira nga njiwa amaziga. Wabeewo ali wakati wa Katonda nange omuntu, okufaanana ng'oyo abeera wakati w'omuntu ne munne. Kubanga emyaka mitono gye nsigazizza giggweeko, ntambule okugenda eyo gye siriva kukomawo. “Obulamu bwange bugenze, ennaku zange ziwedde. Entaana kati y'enninze, Mazima neetooloddwa abakudaazi, ndaba bwe bansosonkereza. Ayi Katonda, ggwe oba onteerawo akakalu. Omulala ananneeyimirira ye ani? Nga bw'obazibye emitima ne batasobola kutegeera, tobaleka kuwangula. Alyamu banne olukwe afune ebyabwe, abaana be zibasanze. “Nfuuliddwa ekisekererwa abantu, era gwe bawandira amalusu. Ennaku enzibye amaaso. Nzenna nkozze, nsigadde magumba. Abeeyita abalungi balaba kino ne beekanga. Ataliiko ky'avunaanibwa asituka, n'ambala nti sissaamu Katonda kitiibwa. Eyeeyita omutuufu yeeyongere okuguma. N'atazzanga musango yeeyongere okwenyweza. Kale mwenna mukomewo muddemu bye mubadde mugamba. Sijja kulaba mu mmwe wa magezi. “Ennaku zange zigenze! Bye nteekateeka bifudde, era ne bye mbadde neegomba. Bannange ekiro bakiyita misana. Ekizikiza bwe kikwata, nti bunaatera okutangaala. Magombe yokka gye nsuubira okuba amaka gange. Nneeyalire neebake mu kizikiza. Mpite entaana kitange n'envunyu mmange, era mwannyinaze. Olwo essuubi lyange lye liruwa? Kye nsuubira ani akiraba? Ndikkirira nakyo olwo magombe, ngalamire nakyo mu nfuufu?” Awo Biludaadi Omusuuhi n'addamu ng'agamba nti: “Munaatuusa wa okunoonya eby'okwogera? Musooke mwerowooze tulyoke twogere. Otubalira ki mu bisolo? Lwaki otufuula abasiru? Ggwe eyeetaagula mu busungu, ensi eneeyabulirwa ku lulwo? “Obulamu bw'omubi kya mazima buzikira ng'ettaala, oba ng'omumuli ogutaddayo kwaka. Aliba ng'ennyumba erimu ekizikiza, ettaala emulisaamu bw'ezikira. Eyali atambula nga yeekakasa kati yeekengera w'alinnya. Amagezi g'awa abalala yennyini gamusudde. Ebigere bye bimutunze: yeesudde yekka mu mutego. Omutego gumukutte ekisinziiro, akakunizo kamunywezezza. Bamuteze omuguwa mu ttaka, bamukwese ekigu mu kkubo lye. Entiisa emufuluma buli ludda, emugoba buggereggere okumukwata. Alumwa enjala emumalamu amaanyi n'akabi kamuli ku lusegere. Ekirwadde kimulidde omubiri, ekimbe kimuwemmense. Asikambulwa mu nnyumba ye mw'abadde ateredde entende, ne bamutambuza okumutwala eri Kabaka w'entiisa. Beesulira mu nnyumba kaakano etekyali yiye, nga bamaze okumansa obuganga mw'abadde. Aliba ng'omuti ogukala okuviira ddala ku mirandira wansi okutuuka waggulu ku busanso. Alyerabirirwa ddala ku nsi ne wabulawo amujjukira. Aliggyibwa mu kitangaala n'agoberwa mu kizikiza, ave mu nsi y'abalamu. Ku babe tewalisigalawo mwana wadde omuzzukulu. Era gye yabeeranga teriwonawo muntu. Ebuvanjuba n'ebugwanjuba abaliwulira ebimutuuseeko balyesisiwala ne batya. Enkomerero y'ababi ye eyo, awatali kuwannaanya. Ekyo kye kirituukirira ku bateefiirayo ku Katonda.” Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: “Mulituusa wa okunneeraliikiriza, n'okumbetentera mu bigambo? Emirundi kkumi ddamba muli ku nze mwevumira. Okumpisa mutyo temuswala? Ne bwe nandibadde omusobya, mazima ensobi yange, era yandikosezza nze. Ne bwe munanneekulumbalizaako, ne musinziira ku buyinike bwange mukakase nti ndi mwonoonyi, musaanye mumanye nti Katonda kino ye akintuusizzaako, n'anzingiza n'ekitimba ankwase. “Laba, bwe ndeekaana nti: ‘Banzita!’ tewaba ampulira. Bwe nkuba enduulu bannyambe, tewali antaasa. Katonda azibye ekkubo lyange, sirina nze bwe mpitamu. Amakubo agafudde ga nzikiza. Ekitiibwa akinnyambudde, aggye engule ku mutwe gwange. Ammenyeemenye enjuyi zonna, sikyaliko bwe ndi! Essuubi lyange alikudde nga muti. Ansibidde obusungu obwaka ng'omuliro. Ampisa nga mulabe we. Amagye ge gajjira wamu ne gategeka okunnumba. Ne gasiisira okuzingiza eweema yange. “Baganda bange Katonda anjawukanyizza nabo. N'abamanyi banfuukidde nga be simanyi. Abooluganda banneggyeeko. Mikwano gyange ennyo nabo banjabulidde. Nneerabiddwa be nakyazanga omwange. Abawala abaakolanga ewange bampisa nga mugwira. Bandaba nga munnaggwanga. Omuddu gwe mpita tampitaba, ne bwe mmwegayirira tanfaako. Mukyala wange anneesamba. Abaana ba mmange tebansemberera. N'abaana abato bannyooma. Bwe nsitukawo ne beesekera. Bonna mikwano gyange ennyo bankyaye. Be nayagalanga banneegaanye. Nsigaddeko lususu na magumba. Mponedde watono obutafa. Munsaasire, munsaasire mikwano gyange mmwe! Kubanga Katonda ankubye omuggo! Munjigganyiza ki nga Katonda bw'anjigganyizza? Kye mbonyeebonye tekibamala? “Singa okwemulugunya kwange kuwandiikiddwa! Singa kukubiddwa mu kitabo. Singa kwoleddwa mu lwazi n'ekkalaamu ey'ekyuma, ne bajjuza mu nnukuta essasi essaanuuse, kusomebwenga ennaku zonna. Naye mmanyi ng'Omununuzi wange mulamu: ye alisalawo eky'enkomerero ku nsi. Ndiraba Katonda nga nnina omubiri; wadde ng'endwadde eridde olususu lwange. Ndimulaba nze nzennyini n'amaaso gange nga ye oyo, sso si mulala. Omutima gwange gweraliikirira. Bwe mugamba nti: ‘Ka tumuyigganye nno ensonga kwe tusinziira eri mu ye’, mutye ekitala: kubanga obusungu bwegwanyiza okubonerezebwa n'ekitala, mulyoke mumanye nti eriyo okusala omusango.” Awo Zafari Omunaamati n'addamu ng'agamba nti: “Olw'ebigambo by'oyogedde ebirowoozo byange bimpalirizza okwanguwa okubaako kye ŋŋamba. Mpulidde ebinnenya ebivuma, omutima ne gumpabula kye nnina okukwanukula. “Ggwe tokimanyi nti okuva ddi bukya muntu ateekebwa ku nsi Essanyu ly'omubi liba limpi? N'atassaamu Katonda kitiibwa asanyukako kaseera buseera? Ne bw'akula okuwagguuka okutuuka eyo ku ggulu ng'omutwe gwe gutuuka ne ku bire, alifuuyibwa embuyaga n'emumalawo ng'enfuufu. Abo ababadde bamulaba balyebuuza gye yalaga. Alibulawo nga kirooto nga kulabikirwa kwa mu kiro, n'ataddayo kulabikako. Taliddayo kukubikako kimunye; Alibulawo mu kifo we yabeeranga. “Abaana be baliddiza abaavu obugagga bwe yali ababbyeko. Eryanyi ly'abadde alina mu buvubuka, aligalamira nalyo mu nfuufu. Wadde ng'ekibi kimuwoomera nga sukaali mu kamwa ke, n'akikwekako ne wansi w'olulimi lwe, n'akisigaza mu kamwa agire ng'akyanuuna, naye emmere ye emukaayirira mu lubuto lwe, n'efuuka obusagwa bw'omusota mu ye. Asesema obugagga bwe yamira, Katonda n'abumuggya mu lubuto. Ky'anuuna kiri nga butwa: kimutta nga bwe yandittiddwa essota ery'obusagwa. Taliwangaala kulaba ku birungi Katonda by'agaba, ebiri ng'emigga egikulukuta omubisi gw'enjuki n'amata. Aliwaayo bye yateganira byonna, talibirya kumukka mu lubuto. N'amagoba g'afunye taligeesiimiramu. Kubanga yayisa bubi abaavu, n'abalekerera. Yanyaga amayumba g'ataazimba. Olw'omululu gwe ogutamatira, taasigazengawo na kimu ku ebyo by'ayagala. Tewali ky'alya n'alekawo. N'okubeera obulungi kyekuliva kumuggwaako. W'alibeerera n'ebingi ebivuluuja w'alirabira ennaku n'adooba, atuukibweko buli kizibu. Ng'anaatera okulya okwekkutira Katonda anaamuyiwangako ekiruyi kye ekingi, ne kimufuukira emmere ye. Alidduka ekyokulwanyisa eky'ekyuma, n'afumitibwa akasaale ak'ekikomo. Kamuyitamu ne kafuluma: omumwa gwako ogumasamasa, ne guyita mu kalulwe ke. Alikwatibwa entiisa. “Ebyobugagga bye bitokomoka. Omuliro ogutakumwa bantu gulimwokya, ne gusaanyaawo ne by'asigazzaawo mu nnyumba. Eggulu liryerula ebibi bye, n'ensi n'emulumiriza. Eby'omu nnyumba ye birinyagibwa, ne bitwalibwa ku olwo Katonda lw'alisunguwala. Ogwo gwe mugabo Katonda gwe yawa omwonoonyi. Bwe busika bwe yamuteerawo.” Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: “Muwulirize bulungi bye ŋŋamba kye kikubagizo kyokka kye mbasaba. Munzikirize njogere, bwe nnaamala, munaayongera ne muduula. Nze ku bwange seemulugunyiza bantu. Kale lwaki siba atali mugumiikiriza? Muntunuulire, mwewuunye era mukwate ne ku mumwa! Bwe ndowooza ku kyantuukako, neekanga, ne neesisiwala nzenna! Lwaki bo abakola ebibi bawangaala ne bakaddiwa, nga ba buyinza, ba maanyi? Bafuna abaana n'abazzukulu ne babeerawo okulaba bwe bakula. Amaka gaabwe tewaba bigatiisa ne Katonda tagabonereza n'akatono. Ebisolo byabwe biwaka ne bizaala bulungi. Bazaala omuyeeye gw'abaana, ne baligita ng'obuliga. Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, ne banyumirwa eddoboozi ly'omulere. Bafuna ebirungi mu bulamu era ne bafiira mu ddembe. Bagamba Katonda nti: ‘Tuveeko! Tetwetaaga kumanya by'otwagaza kukola.’ ‘Ye ani Omuyinzawaabyonna tulyoke tumuweerezenga? Kitugasa ki okubaako kye tumusaba?’ “Bo bagamba nti bawangaala lwa maanyi gaabwe. Amagezi g'ababi sigakkiriza. Ettaala y'ababi ddi lwe yali ezikiziddwa? Akabi ddi lwe kaali kabatuuseeko? Era ddi Katonda lwe yali ababonerezza mu busungu, ne baba ng'ebisasiro ebifuuyibwa embuyaga, oba ng'ebisusunku ebitwalibwa kikuŋŋunta? Mugamba nti: ‘Katonda abonereza abaana olw'ebibi bya kitaabwe.’ Katonda abonereze oyo ye yennyini akimanye nti abonerezeddwa lwa bibi bye ebyo. Ye yennyini ye aba alaba bw'azikirizibwa, alege ku busungu bw'Omuyinzawaabyonna. Kubanga bw'amala okufa afaayo ki ku bituuka ku b'omu maka ge? Omuntu ayinza okuyigiriza Katonda asalira omusango n'abo abali mu bifo ebya waggulu? Waliwo afiira mu maanyi ng'atereeredde ddala ali bulungi: ng'omubiri gwe mugevvu, munyirivu, ng'alabikira ddala nga muvubuka. Omulala afa nga mwennyamivu nga tabangako na musanyufu. Bombi bagalamira bumu mu nfuufu ne babikkibwako envunyu. “Ddala ebirowoozo byammwe mbimanyi n'akabi ke muteesa okunkolako. Kubanga mubuuza nti: ‘Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Amaka g'abaakolanga ebibi gali ludda wa?’ Temwogeranga na batambula ŋŋendo? Temuwuliranga mawulire ge badda nago, nti akabi lwe kagwawo akola ebibi ye awonawo? Ne Katonda lw'asunguwala, era akola ebibi gw'ataliza? Ani yeesimbawo mu maaso ge amulumirize omusango gw'azzizza? Ky'akoze ani akimusasula? Bw'atwalibwa mu ntaana amalaalo ge bagakuuma. Abantu nkumu abawerekera nga bagenda okumuziika. Abamu bakulemberamu, abalala ne bavaako emabega, ne bamuyiwako bulungi akataka. Kale mmwe munankubagiza mutya n'ebigambo ebitalina makulu? Nga ne bye munziramu birimu bulimba busa?” Awo Elifaazi Omutemani n'addamu ng'agamba nti: “Omuntu alina ky'ayinza okugasa Katonda? Ddala bw'abeera omugezi ayinza okwegasa. Ggwe okuba omwenkanya kirina kye kiganyulamu Katonda? Wadde okubaako kye kimuyamba ggwe obutabaako ky'ovunaanibwa? Akuvunaana lwa kumussaamu kitiibwa? Era kyava akuwozesa? Nedda, akulanga bibi byo ebingi n'ebyonoono byo ebitaliiko kkomo. Waggya ku baganda bo emisingo egy'obwereere, n'obambulamu n'engoye zaabwe n'obaleka bwereere. Abakooye tewabawanga mazzi kunywa. Era wammanga emmere abayala. Olw'okuba oli wa maanyi, ettaka lyonna walyefunza, ng'olirekako abo bokka b'oyagala. Bannamwandu wabeegobako n'otobayamba. Walumyanga ne bamulekwa, ng'obanyagako ebyabwe. Kyova weetooloozebwa emitego, n'ojjirwa n'eby'entiisa, ne bikweraliikiriza. Ekizikiza kikubuutikira n'otosobola kulaba, n'obikkibwa engezi y'amazzi. “Katonda ali waggulu mu ggulu. Alaba n'emmunyeenye gye zeewanise. Oyinza okwebuuza nti: ‘Katonda amanya ki? Ayinza okusala omusango ng'abikkiddwa ebire ebikutte ekizikiza?’ Olowooza nti ebire ebikwafu bimuziyiza okulaba ng'atambulira ku nkulungo y'eggulu? “Oyagala kukuuma mpisa ez'edda ababi mwe batambulira? Ng'ekizimbe ekitwalibwa mukoka, baafa ekiseera kyabwe eky'okufa tekinnatuuka. Bano be bantu abaagamba Katonda nti: ‘Tuveeko.’ Era nti: ‘Omuyinzawaabyonna ayinza kutukolako ki?’ Sso ng'ennyumba zaabwe yazijjuza ebirungi. Naye amagezi g'ababi sigakkiriza. Abatuukirivu basanyuka n'abataliiko kye bavunaanibwa basekereza nnyini, bwe balaba ababi nga babonerezebwa. Ne bagamba nti: ‘Mazima abalabe baffe bazikiriziddwa. Ne bye baleseewo, omuliro gubisaanyizzaawo.’ “Tabagana ne Katonda obe n'emirembe, olwo onoofuna ebirungi. Kkiriza by'ayigiriza, okuume ebigambo bye mu mutima gwo. Kyuka nga weetoowaza, odde eri Omuyinzawaabyonna, okomye ebibi byonna ebikolebwa mu nnyumba yo. Suula ebyobugagga bwo mu nfuufu, ne zaabu omulungi ow'e Ofiri mu mayinja ag'omu kagga, Katonda Omuyinzawaabyonna ye aba abeera zaabu wo. Era ye aba abeera ffeeza wo gwe watuuma entuumu. Katonda Omuyinzawaabyonna lw'alikuwa essanyu eringi n'omutunuulira nga tolina ky'otya. Anaakuwuliranga ng'oliko ky'omusaba n'otuukiriza kye weeyamye okukola. Onoosalangawo eky'okukola n'okituukiriza. N'ekkubo ly'oyitamu linaabeerangamu ekitangaala. Bwe waba abatoowazibwa, onoogambanga nti: ‘Eriyo okukuzibwa.’ Era Katonda alokola omwetoowaze. Awonya omuntu ataliiko ky'avunaanibwa. Kale anaakuwonyanga nga tozzizza musango.” Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: “Ne leero neemulugunya era mpakanya, Wadde ngezaako obutasinda, naye siyinza kweziyiza. Kale singa mmanya gye nnyinza okusanga Katonda, ne ntuuka n'awali entebe ye! Nandisengese ensonga zange mu maaso ge, sandimulekeddeyo n'emu. Nandimanye by'anziramu, ne ntegeera by'aŋŋamba. Yandinnyombesezza mu bukulu bwe n'obuyinza bwe? Nedda, yandiwulirizza bye ŋŋamba. Eyo omwesimbu ayinza okuwoza naye. Omulamuzi wange yandinnejjerezza ne biggwa. “Kale nnoonya ebuvanjuba, naye nga Katonda taliiyo, n'ebugwanjuba ne simulabayo. Katonda akolera mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, wabula siyinza kumulaba. Kyokka ye amanyi ekkubo lye nkwata. Bw'alimala okungeza, ndivaamu ntukudde nga zaabu. Ntambulira mu kkubo ly'ayitamu. Siriviiramu ddala n'akatono. Sivanga ku by'andagira. Ngoberera by'ayagala, sso si ebyo nze bye neegomba. “Naye ye y'omu bulijjo tewali ayinza kumukyusa Era akola ekyo ky'ayagala. Ajja kutuukiriza ekyo, kye yanteekerateekera. Era alina bingi ebiri ng'ekyo. Kyenva nfuna entiisa w'ali Sirema kutya bwe mmulowooza. Kubanga Katonda anzirisizza, Omuyinzawaabyonna antekemudde. Katonda ye antiisa sso si nzikiza, wadde ye enzibye amaaso. “Lwaki Omuyinzawaabyonna tateekawo biseera bya kusaliramu musango? Lwaki abaweereza be tebalaba bw'asala musango mu bwenkanya? Waliwo abajjulula empaanyi z'ebituuti, okugaziya ettaka lyabwe. Banyaga ebisolo, ne babyerundira ng'ebyabwe. Batwala endogoyi ya mulekwa. Ente ya nnamwandu gwe bawola bagisigaza nga musingo. Bagoba abaavu bave mu luguudo. Abanaku abali mu ggwanga, bonna balina kwekweka. Olwo abaavu ne baba ng'entulege: babeera eyo mu ttale nga bakola okunoonya akamere, ak'okuwa ku baana baabwe balye. Mu nnimiro ezitali zaabwe mwe banoonya kye bawa ensolo zaabwe. Banoga ku mizabbibu egirekeddwa mu nnimiro z'aboonoonyi. Basula bali bwereere, awatali na kye beebisse okuwona empewo efuuwa. Enkuba ebatobeza mu nsozi. Ne beekwata ku lwazi, nga we beggama tewali. Waliwo abakwakula abaana abatalina bakitaabwe ne babaggya ku bannyaabwe Ne batwala omwana w'omwavu, ng'omusingo gw'ebbanja. Abaavu bayita bwereere, nga tebalina kye bambadde. Enjala n'ebaluma nga beetisse emmere y'empeke gye bakungudde. Bakamulira omuzigo gw'emizayiti mu bisenge by'abo. Basogola emizabbibu mu masogolero gaabwe, bo ne balumwa ennyonta. Abafa basinda mu kibuga n'abafumitiddwa badaaga. Naye Katonda tafaayo ku bisobyo bibakolebwa. “Waliwo abajeemera ekitangaala. Beewala era tebatambulira mu kkubo omuli ekitangaala. Omutemu agolokokera wamu n'emmambya n'atta omwavu n'omunaku. Era ekiro n'aba omubbi. Omusajja omwenzi alinda budde kukwata, n'agamba nti: ‘Tewali anandaba.’ Amaaso ge n'agakweka. Mu kiro ababbi mwe bakubira ekituli mu nnyumba, emisana ne beggalira, ne beewala ekitangaala. Eky'obudde okukya bakitya, bamanyidde bikangabwa bya nzikiza. “Omubi akuluggusibwa ng'amazzi. N'ekibanja kye kikolimiddwa, tewakyali akola mu mizabbibu gye. Ng'ebbugumu ly'ekyeya bwe limalawo amazzi g'omuzira ogusaanuuse, n'amagombe bwe gamalawo omwonoonyi. Ne nnyina yennyini amwerabira. Envunyu zimweriira; Azikirira ng'omuti ogutemeddwa. Ayisa bubi omugumba, atazaalanga ku mwana. Ne nnamwandu n'atamukolera kalungi. Naye Katonda alina amaanyi okuggyawo bannakyemalira. Asituka n'abamalako essuubi ery'okuba abalamu. Yandibawa emirembe ne beeyinula. Kyokka abasimbye amaaso. “Bagulumizibwa okumala ebbanga, oluvannyuma ne babulawo. Batoowazibwa ne baggyibwawo ng'abalala bonna. Baba ng'ebirimba by'eŋŋaano ebisaliddwa ku kikolo. Oba si bwe kiri, ani anannumiriza nti nnimba, ne bye njogera temuli nsa?” Awo Biludaadi Omusuuhi, n'addamu ng'agamba nti: “Katonda ye alina obuyinza obufuga, wa ntiisa. Aleeta emirembe mu bwakabaka bwe obw'omu ggulu. Amagye g'alina tegabalika. Ekitangaala kye kyakira buli wantu. Kale mu maaso ga Katonda omuntu ayinza atya okuba omutuukirivu? Era azaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu? Mu maaso ge, oba n'omwezi tegwakaayakana; N'emmunyeenye ziba ng'ezitalina kitangaala. Kale alabisa omuntu envunyu obuvunyu; Omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi!” Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: “Kale ng'oyambye omunafu ali nga nze! Ng'odduukiridde ataliimu maanyi! Kale laba bw'owadde amagezi atalina ky'amanyi! Olaze ebingi by'otegeera obulungi! Ani akuyambyeko okwogera obulungi bw'otyo? Ani akuweeredde by'oyogedde? “Emagombe mu mazzi, agali eyo wansi, abafu bakankana nga batidde. Emagombe teri kikwekeddwa Katonda. Era alaba byonna ebiri mu kifo eky'okuzikirira. Abamba eggulu ery'omu bukiikakkono mu bbanga ejjereere. Era awanika ensi awatali kigiwanirira. Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu, ne bitayulika olw'obuzito. Akweka entebe ye ng'agibikkako ebire bye. Yassaawo enkulungo ku nnyanja, okwawula ekitangaala ku kizikiza. Empagi z'eggulu zikankana ne zijugumira bw'akangamu okuzisaanyaawo. Obuyinza bwe bukkakkanya ennyanja. Olw'amagezi ge azikiriza ekikulejje kyamu Rahabu. Yafuuwa ebire n'abyera ku ggulu. Yakwata ekissi n'afumita ekikulejje ky'omu nnyanja ekiwulukuka. Naye ebyo katundu butundu ak'ebintu by'akola. Era bye tumuwulirako bye bitono ddala. Naye obuyinza bwe obw'amaanyi ani ayinza okubutegeera?” Awo Yobu n'addamu okwogera emboozi ye, n'agamba nti: “Katonda atampisizza bulungi, era Omuyinzawaabyonna andeetedde okunyolwa mu mwoyo, gwe ndayira nti: Nga nkyali mulamu, era nga nkyassa omukka Katonda gwe yampa, siriyisa bya bulimba mu kamwa kange; wadde okwogeza eby'obukuusa olulimi lwange. Kye sisobola kukola, kwe kubagamba nti: muli batuufu mmwe. Tewali lwe ndigamba nti: ndiko kye nvunaanibwa. Nnywezezza obwesigwa bwange, siribuleka kunvaako. Omutima gwange teguliiko kye gunvunaana obulamu bwange bwonna. “Omulabe wange abonerezebwe ng'omubi. N'oyo ansitukiramu, akolweko ng'omwonoonyi. Atassaamu Katonda kitiibwa kiki ky'asuubirayo nga Katonda amukomezza n'amuggyako obulamu? Bw'alibeera mu buyinike, Katonda aliwuliriza okukaaba kwe? Ye muntu asanyukira okusinza Omuyinzawaabyonna, era amwegayirira ennaku zonna? “Ka mbayigirize mmwe nti Katonda wa buyinza. Ka nneme okubakweka ebifa ku Muyinzawaabyonna. Naye nammwe mwenna mubyerabiddeko n'agammwe. Kale lwaki mweyogeza ebitalina makulu? “Guno gwe mugabo Katonda gw'awa ababi. Bwe busika Omuyinzawaabyonna bw'awa abanyigiriza abalala: abaana be bazaala ne baala, baba ba kufa kitala. Ezzadde lyabwe terifuna mmere ya kulya erimala. Be baleka bakyali abalamu banattibwanga olumbe, bannamwandu baabwe, ne batakungubaga. Omubi ne bw'alikuŋŋaanya ensimbi ezitabalika, n'ategeka ebyambalo ebisinga ku bye yeetaaga, ebyo by'aba ategese omulungi ye alibyambala. Era ataliiko ky'avunaanibwa, ye aligabana ensimbi. Ennyumba omubi gy'azimba eba nga ya kiwojjolo, teguma. Oba era eba ng'ensiisira ey'omukuumi w'ennimiro. Agenda okwebaka nga mugagga, Kyokka taliddayo kuba bw'atyo. W'azibulira ati amaaso ng'obugagga bwe bubuzeewo. Ebitiisa bimutuukako ng'engezi y'amazzi; Ekiro kibuyaga n'amukuŋŋunsa. Embuyaga y'ebuvanjuba emusitula n'agenda, n'emukunguzza okumuggya w'abeera. Emufuumuula awatali kusaasira ng'afuba okugyetakkuluzaako. Emukubaganyiza ebintu, n'emuleekaanyiza amaloboozi. “Kituufu ebaayo ekirombe omusimibwa ffeeza. N'ebaayo n'ekifo gye balongooseza zaabu. Mu ttaka mwe basima ekyuma. Basaanuusa biyinja, okufunamu ekikomo. Abantu bagoba enzikiza nga bakoleeza emimuli, ne banoonya eyo mu ttaka wansi ebiyinja bye banaasimayo mu bunyomero eyo ekuzimu. Bayiikuula eyo ewala eteba bantu, n'abatambuze gye batayita, ne bawanirirwa emiguwa kwe beewuubira okukka, nga bali eyo bokka ku bwabwe. Emmere erimwa ku nsi. Naye wansi w'ensi eyo, wali ng'awali omuliro. Enjazi zaayo mwe baggya amayinja ga bbululu agayitibwa Safiro. Ne mu nfuufu yaayo mulimu zaabu. Ekkubo ery'omu birombe tewali nnyonyi eyigga erimanyi. Terirabwanga na kamunye. Teriyitibwangamu nsolo nkambwe. Era empologoma terikwatanga. “Abantu baasa enjazi enkalubo. Basima ensozi, okutuuka ku ntobo zaazo. Batema emikutu mu njazi ne bakuba eriiso ku buli kintu eky'omuwendo ennyo. Batangira emigga okukulukuta, ebikise ne babiteeka awalaba. “Naye amagezi gasangwa wa? Ludda wa awaba okutegeera? Tegasangibwa mu nsi y'abalamu. N'omuntu tamanyi muwendo gugalimu. Obuziba bugamba nti: ‘Tegali mu nze.’ N'ennyanja egamba nti: ‘Tegali we ndi.’ Towaayo zaabu n'ogafuna. Topima ffeeza n'ogagula. Zaabu omulungi ow'e Ofiri tagenkana muwendo. Wadde amayinja ag'omuwendo Onika oba Safiro. Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana. Tegayinza kuwaanyisibwa na kibya kyakolebwa mu zaabu. Mu kuba ag'omuwendo, amagezi gasingira wala amayinja agayitibwa korali, ne kristaalo, ne luulu. Topaazi eriva mu Kuusi, ne zaabu akira obulungi, nabyo tebyenkana magezi. “Kale amagezi gava wa? Ludda wa awaba okutegeera? Ebiramu byonna gabyekwese, n'ennyonyi ezibuuka mu bbanga. Amagombe n'Okuzikirira bigamba nti: ‘Twewulirirako n'agaffe Bye bagoogerako mu ŋŋambo.’ “Katonda yekka ye amanyi awabeera amagezi, ye ategeera ekkubo erituusaayo. Kubanga ye atuusa amaaso mu buli kanyomero ka nsi. Ye alaba buli kantu akali wansi w'eggulu. Bwe yawa empewo obuzito, n'apima amazzi n'ekigero; Bwe yateekera enkuba etteeka, n'enjota ekkubo ly'ekwata, olwo n'alaba amagezi, n'agalangirira. N'agakebera n'ageekenneenya. N'agamba abantu nti: ‘Okutya Mukama ge magezi; Okwewala okukola ekibi, kwe kutegeera.’ ” Awo Yobu n'ayongera okwogera, n'agamba nti: “Singa mbadde nga bwe nabanga edda! Ne mba nga mu biseera biri, mwe nalabirirwanga Katonda! Ettaala ye bwe yayakiranga awo ku mutwe gwange, okummulisiza mpite mu kizikiza! Mu biseera ebyo nabanga bulungi, nga Katonda ye munnange, ataasa n'amaka gange. Olwo Omuyinzawaabyonna yabeeranga wamu nange; n'abaana bange nga banneetoolodde. Ng'amata nganaabya n'ebigere; nga n'olwazi lukulukuta omuzigo gwe bakamulirako, mu mizayiti gyange. Bwe navangayo okujja mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, ntereeze entebe yange mu luggya, abavubuka bandabanga ne banviira. Abakadde ne basituka ne bayimirira; Abakulembeze ne basirika, ne bakwata ne ku mumwa. N'abakungu ne batanyega, wadde okubaayo awuuna! “Abaawuliranga bye njogera n'abandabanga, nga bankulisa. Nga banjogerako birungi byereere. Kubanga nawonyanga omwavu ansaba obuyambi ng'akaaba, n'eyafiirwako kitaawe, atalina amukwata ku mukono. Be nawonya okufa bansabiranga. Bannamwandu bye nabakolera byabasanyusa ne bayimba. Bulijjo nakolanga bituufu, nga bye binneetooloola. Obwenkanya bwange ne buba ng'ekyambalo kyange, n'ekitambaala ky'oku mutwe. Nakulemberanga bamuzibe, ne mpaniriranga abalema. Nafuuka kitaawe w'abaavu. Nekkaanyanga ensonga z'abo be simanyi. Namenyanga emba z'aboonoonyi Ne mbaggya omuyiggo mu mannyo “Nalowooza nti ndifiira mu kisu kyange, nga mpezezza ennaku ze mpangadde. Nali ng'omuti ogulandizza emirandira awali amazzi; ng'omusulo gugwa ku matabi okumala ekiro kyonna. Naweebwanga ekitiibwa bulijjo n'amaanyi gange gaddanga buto. Abantu baalindanga kasirise ne bawuliriza mbabuulirire. Bye njogedde bwe byaggwanga, nga tewali kye bongerako. Ebigambo byange ne bibannyikira. Bannindiriranga ng'abalindirira enkuba. Ne kiba ng'abalimi bwe baaniriza ekire ky'enkuba ya ttoggo. Be nasekerangako nga tebayinza na kukkiriza! Akaseko kange ku maaso, kaabazzangamu amaanyi. Nabeeranga mukulu mu bo ne mbasalirangawo eky'okukola. Nababeerangamu nga kabaka mu ggye lye; era ng'omuntu akubagiza abakungubaga. “Naye kaakano be nsinga obukulu be bansekerera. Bakitaabwe nabanyoomanga ne sibakkiriza kubeera wamu na mbwa zikuuma ggana lyange. Nandibafunyeemu mugaso ki abantu abatakyalimu maanyi? Olw'obwavu n'enjala ebaluma balumaaluma ebikalu ekiro mu kizikiza mu ddungu. Banoga ku bisaka ebikoola by'ebimera. N'emirandira gy'akeeyeeyo ye mmere yaabwe. Bagobebwa mu bantu, ne bakubirwa enduulu ng'ababbi. Bagwanira kubeeranga mu mifulejje ne mu miwaatwa; mu binnya ne mu mpuku ez'omu njazi. Bakaabira mu bisaka ng'ebisolo, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira. Batabani ba basirusiru, baana ba batamanyiddwa. Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu ggwanga. Kaakano mbafuukidde luyimba, ndi ŋŋombo yaabwe ya kugereesa. Banneetamiddwa, banneesamba. Amaaso gange tebagataliza kugawandira malusu. Kubanga Katonda andese ngalo nsa n'ammala amaanyi, Nze we mbeera kye baagala kye beekolera. Ku ludda lwange olwaddyo esituseeyo abalalulalu: batega emitego we nninnya. Bategeka kulumba bantemule. Baziba ekkubo lyange basobole okummalawo, nga tebeetaaze muyambi. Bajja nga bayita mu kituli ekigazi; mu matongo wakati, ne bakulukuta ng'engezi. Nzijirwa ebintiisa. Ekitiibwa kyange kigenze, ng'ekitwaliddwa embuyaga. Obuwonero bwange buyise nga kire. “Kaakano mpweddemu obulamu Ekiseera ky'obuyinike kintuuse. Ekiro amagumba gammeketa Obulumi bwe nnina tebusalako. Bunkwata n'amaanyi ne bunfunyaafunya olususu. Ne bummiima ng'obulago bw'ekyambalo kyange. Katonda ankubye mu bitosi; Nfuuse nga nfuufu na vvu. Nkukaabirira ayi Katonda, n'otonziramu. Nnyimirira, n'ontunuulira butunuulizi. Onfuukidde omukambwe, n'onjigganya n'amaanyi go gonna. Onsitula n'onneebagajjira ku mbuyaga. Onjuuyayuuyiza eno n'eri mu kibuyaga akunta. Ddala mmanyi ontwala magombe mu kifo erigenda bonna abalamu. Lwaki olumba omuntu azikirira atakyalina ky'ayinza kukola, wabula okusaba obuyambi? Ssaakaabira wamu amaziga n'abali mu nnaku yaabwe? Ssaalumirwa abo abali mu bwetaavu? Naye bwe nasuubira ebirungi ebibi ate bye byajja. Bwe nalindirira ekitangaala, ekizikiza kye kyajja. Omutima guncankalanye, tegulina bwe guweera. Ekiseera ky'okubonaabona kintuuseeko. Ntambula nnakuwadde, ne sifunayo kikubagizo. Nneesimba we bakuŋŋaanidde, ne nsaba nti bannyambe. Ndi muganda wa bibe era mukwano gwa bimmaaya. Olususu lunzirugadde, n'omubiri gumbunye ebbugumu. Ennyimba ze nkuba ku nnanga, kati za bakungubazi. Eddoboozi ly'endere yange ndifuuyira bakaaba maziga. “Nalagaanya amaaso gange okugeekuumanga. Kale ate nandiyinzizza ntya okugeekaliriza omuwala? Katonda yampa mugabo ki ogwa waggulu gy'ali? Nafuna basika ki okuva mu ggulu ew'Omuyinzawaabyonna? Akabi tekajjira boonoonyi? N'ennaku tegwira babi? Katonda talaba kkubo lye nkutte? Talaba buli kigere kye nsitula? Oba natambulira mu bulimba, ebigere ne bintwala mu bukuusa, mpimibwe mu minzaani epima ekituufu, Katonda amanye bwe ndi ataliiko kye nvunaanibwa. “Oba nava mu kkubo ettuufu, ne mpugulwa bye ndaba, ebinteekako ebbala, kale bye nsiga biriibwe omulala. Emmere gye mbaza ekuulibwe esuulwe. Oba neegomba muk'omusajja omulala, ne nteegera ku mulyango gwa muliraanwa, kale mukazi wange afumbire omusajja omulala, era abalala basule naye; kubanga ekyo kyandibadde kya kivve. Ddala kyandibadde kibi ekireetebwa mu balamuzi. Kyandibadde muliro ogwokya, oguzikiriza. Gwandiwemmense buli kye nnina kyonna. “Oba nagaana okuwulira omuddu wange oba omuzaana wange nga banneemulugunyiza, kale ndikola ntya Katonda bw'alisituka? Ndimuddamu ki bw'alijja okumbuuza? Eyantonda mu lubuto, era naye si ye yamutonda? Si ye omu eyatubumba mu lubuto ffembi? Nali nnyimye abaavu bye beetaaga? Nali mmazeeko nnamwandu essuubi? Nali ndidde emmere yange nzekka nga mulekwa taliddeeko? Okuva obuto bwange, nalabiriranga mulekwa nga kitaawe. Bwe nalabanga omuntu afa olw'okubulwa ekyokwambala, oba omwavu atalina kye yeebikka, nga mmubugumya n'ekyambalo ekikoleddwa mu byoya by'endiga zange. Oba nali ndyazaamaanyizza mulekwa nga ndabye nti abalamuzi banannyamba, kale ekibegabega kyange kiweekukeko. N'omukono gwange gumenyeke eggumba. Nali siyinza kukola bintu biri ng'ebyo, kubanga ntya Katonda. “Nali ntadde essuubi lyange mu zaabu? Nali ŋŋambye zaabu omulungi nti: ‘Ggwe bwesige bwange?’ Nali ntadde essanyu lyange mu byobugagga bwange obungi? Wadde okwesiima olw'endulundu y'ebintu? Nali ntunuulidde enjuba mu kwaka kwayo, oba obulungi bw'omwezi ogumasamasa, omutima gwange ne gusikirizibwa mu nkukutu; ne nnywegera ekibatu kyange okulaga bwe mbigulumiza? Na kino kyandibadde kibi ekireetebwa mu balamuzi, kubanga nandibadde neegaanye Katonda ali waggulu. Nali nsanyukidde okuzikirira kw'oyo ankyaye; oba okujaganya ng'akabi kamujjidde? Saaganya kamwa kange kwonoona, nsabe nga nkolima, nti afe. Ddi ababeera mu maka gange lwe bataabuuza nti: ‘Ani atakkuse nnyama Yobu gy'agabula?’ Abatambuze mbaaniriza, sireka basule ku kkubo. Sikwekanga nsobi zange ng'abantu abakisa ebibi byabwe, olw'okutya ekibiina ky'abantu, n'okunyoomebwa ab'eŋŋanda. Ne nzira awo ne nsirika, ne nnema n'okuva mu nnyumba. “Kale singa waliwo awuliriza bye ŋŋamba! Bye byange ebyo bye nkakasa. Omuyinzawaabyonna anziremu. Nandyagadde oyo ampawaabidde ampe omusango mu buwandiike. Mazima nandigusitulidde ku kibegabega kyange gulabibwe. Nandigutikkidde ng'engule ku mutwe gwange. Nandimuttottoledde buli kigere kye nsitula. Nandimusemberedde nga sirina kye ntyamu. Singa nabba bubbi ekibanja kye nnimamu, nga kireekaana okukiddiza nnyinikyo, ne ndya ebibala byamu nga sisasudde, ne ndeka enjala ette bannyinikyo, kale omwennyango gukulemu mu kifo ky'eŋŋaano; ne ssere mu kifo kya bbaale.” Ebigambo bya Yobu bikomye awo. Awo abasajja abasatu ne balekera awo okuddamu Yobu, kubanga yalaga nti yeemanyi nga taliiko ky'avunaanibwa. Awo Elihu, mutabani wa Barakeeli Omubuuzi, ow'omu lulyo lwa Raamu, n'abuubuuka obusungu, kubanga Yobu yeeyita atalina musango, n'anenya Katonda. Era Elihu n'asunguwalira ne mikwano gya Yobu abasatu, kubanga baabulwa kye baanukula Yobu, newaakubadde baali bamaze okusalira Yobu omusango okumusinga. Elihu yali akyalinze okubaako ky'agamba Yobu, kubanga waaliwo abaali basinga Elihu obukulu. Bwe yalaba ng'abasajja abo abasatu babuliddwa eky'okuddamu Yobu, obusungu bwe ne bubuubuuka. Awo Elihu ono, mutabani wa Barakeeli Omubuuzi, n'addamu ng'agamba nti: “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakadde. Kyenvudde ntya ne saŋŋanga kubalaga kye mmanyi. Ne ŋŋamba nti: ‘Ab'emyaka ka boogere, Abakadde balage amagezi.’ Naye Mwoyo wa Katonda mu bantu, omukka ogubateekebwamu Omuyinzawaabyonna, gwe gubawa okutegeera. Okukula si kwe kugeziwala, N'okukaddiwa si kwe kutegeera ekituufu. Kyenva ŋŋamba nti: Muntegere amatu, nange ndage kye mmanyi. Kale mubadde mukyanoonya bye munaayogera, ne nnindirira ebigambo byammwe mpulirize eby'amagezi ebibavaamu. Mbateereddeyo omwoyo okuwuliriza, ku mmwe ne wataba n'omu avuganya Yobu mu bigambo, wadde ayanukula by'aleese. Mwekkaanye muleme kwewaana nti amagezi mugazudde. Katonda ye ayinza okumuwangula, sso si bantu. Ebigambo bye tabyolekezza nze. Naye nze sandimuzzeemu na bigambo ng'ebyo ebyammwe. “Basobeddwa, babuliddwa eby'okuddamu. Tebakyalina kye bagamba. Era nga bwe basirise nninde? Bayimiridde awo, tebakyalina kye baanukula? Nze nja kubaako kye nziramu. Nange kye mmanyi nja kukiraga. Eby'okwogera nnina bingi. Mpulira muli ekimpika njogere. Nziyidde siriiko we nzisiza. Ndi ng'omwenge omusu omusaanikire, Ogwagala okwabya mwe guteekeddwa. Nnina kwogera ndyoke mpeere. Nteekwa okubaako kye ŋŋamba. Sijja kwekubiira ku ludda lw'ono oba olw'oli. Sijja era kubaako gwe mpaana. Kubanga simanyi kuwaana. Era sikulwa ng'Omutonzi wange anzigyawo amangu. “Kati nno Yobu, wulira bye ŋŋenda okwogera. Wuliriza ebigambo byange byonna. Kale ka ntandike okwogera, nfulumye muli ekimpujja. Ebigambo byange bye biraga nti ddala ndi mwesimbu. Mwoyo wa Katonda yantonda. Omukka gw'Omuyinzawaabyonna gwampa obulamu. Oba oyinza, nziraamu. Tereeza bulungi ensonga, oyimirire mu maaso gange. Nze naawe mu maaso ga Katonda tuli kimu: Ffembi twabumbibwa mu ttaka. N'olwekyo tobaako ky'ontyamu. Sijja kukuzitoowerera. Mazima oyogedde mpulira. Eddoboozi lyo livuze mu gano amatu gange nti: ‘Sirina musango, tewali kikyamu kye nakola. Siriiko kye nvunaanibwa, era sirina kibi. Naye Katonda afuna ebyekwaso, n'anteeka mu ssa ly'omulabe. Asiba ebigere byange mu nvuba, alingiriza bye nkola byonna.’ Naye ka nkubuulire ggwe Yobu, nti mu kino oli mukyamu. Katonda asukkulumye nnyo ku bantu. Lwaki omwemulugunyiza ng'ogamba nti: ‘Bye mmugamba nga tanziramu?’ Kubanga Katonda ayogera mu ngeri eno oba eri, wadde ng'abantu tebeeteerayo mwoyo. Abantu ekiro mu tulo otungi balina bye balabira mu birooto nga babongootera ku bitanda. Awo Katonda w'aggulira amatu g'abantu. N'abakakasa by'abayigiriza, alyoke abaggye ku bikolwa ebibi, era abaziyize okuba abeepansi. Abawonya okukka emagombe, n'okuzikirizibwa olumbe. Era okulwalira ku kitanda, n'okulumwa mu magumba, bikangavvula omuntu. Obulamu bwe butamwa by'alya. N'ebyamuwoomeranga, n'atabyegomba. Aggweebwako omubiri n'akogga. Amagumba ge agataalabikanga ne gakukunala. Ddala asemberera omugo gw'entaana, n'abula kata okuzikirira. “Naye bw'afuna omu ku bamalayika ba Katonda enkumi n'enkumi abayamba abantu okubalaga ekituufu, n'amukwatirwa ekisa, n'agamba Katonda nti: ‘Muwonye aleme kukka magombe. Mmulabiddeyo omutango. Omubiri gwe gube kawerette ng'ogw'omwana omuto. Era yennyini adde buvubuka,’ olwo omuntu oyo asinza Katonda, Katonda n'amukwatirwa ekisa, n'ajja mu maaso ge nga musanyufu, kubanga amuwonyezza okufa. Ayimbira mu maaso g'abantu ng'agamba nti: ‘Nayonoona, ne nkola ebitatuuse. Naye ne sibonerezebwa nga bwe nsaanidde. Annunudde ne sikka magombe nja kwongera okuba omulamu.’ Mazima ebyo byonna Katonda abikolera abantu bulijjo okubawonya amagombe, n'abawa essanyu olw'okuba abalamu. “Kaakano nno Yobu, wuliriza bye ŋŋamba. Sirika ondeke njogere. Naye oba olinayo ky'ogamba, kyogere mpulire. Yogera, kubanga njagala okukakasa nti tolina musango. Naye oba tokirina, sirika owulire bye ŋŋamba. Nkuyigirize eby'amagezi.” Awo Elihu n'agamba nti: “Muwulirize bye ŋŋamba mmwe abantu abagezi. Muntegere amatu mmwe abamanyi ebintu. Kubanga omuntu mu by'awulira ayawulamu ebituufu n'ebitali bya mazima, nga bw'alya ku mmere n'ayawula ewooma n'etewooma. Twawulemu ekituufu. Twesalirewo ffekka kye tulaba nti kirungi. Kubanga Yobu agambye nti: ‘Siriiko kye nvunaanibwa. Kyokka Katonda tampisizza bulungi. Newaakubadde ndi mutuufu, mpitibwa mulimba. Wadde sizzanga musango, nfumitibwa nfe bufi.’ Yobu muntu wa ngeri ki? Obunyoomi abwekatankira nga bw'anywa amazzi. Ayita wamu n'abakozi b'ebyambyone. Atambulira wamu n'aboonoonyi. Kubanga agambye nti: ‘Okuba mukwano gwa Katonda omuntu talina ky'afunamu.’ Kale muntegere amatu mmwe abantu abategeevu. Tekiyinzika n'akatono Katonda kukola bitasaana. Era Omuyinzawaabyonna okukola ate ebisobyo. Kubanga aliwa buli muntu empeera, ng'asinziira ku ebyo buli omu bye yakola. Omuntu n'alaba nti ky'afunayo kye kiikyo ekigwanira empisa ze. Kituufu ddala nti Katonda wamma taakolenga kibi, era Omuyinzawaabyonna taasalirizenga nsonga. Ani yamuwa omulimu gw'okulabiriranga ensi? Oba ani yateekateeka buli kintu? Katonda singa asalawo okweddiza omwoyo gwe, n'omukka gwe, ebiwa obulamu, buli kiramu kyandizikiridde, abantu ne badda mu nfuufu. “Kale oba ggwe otegeera ebintu wuliriza kye ŋŋamba. Akyawa obwenkanya ayinza okufuga? Oyo omutuufu ow'amaanyi gw'osalira omusango okumusinga? Si ye oyo agamba kabaka nti: ‘Oli ntagasa’, N'abakungu nti: ‘Muli babi?’ Ye oyo ateekubiira ku ludda lw'abafuzi, ayisa obumu abagagga n'abaavu. Kubanga batonde be bonna. Bafa mu kaseera buseera, mu matumbi g'obudde. Abantu banyeenyezebwa ne babulawo. Ab'amaanyi baggyibwawo nga tewali abakuttenako. Atunuulira engeri omuntu gye yeeyisaamu, era alaba buli gy'alaga yonna. Tewali kisiikirize wadde kizikiza ekikutte, abakola ebibi mwe bayinza okwekweka Katonda. Katonda teyeetaaga kumala kulaalika muntu atuuke mu maaso ge okumusalira omusango. Teyeetaaga kubuuliriza okumenyawo ab'amaanyi, n'okussaawo abalala mu kifo kyabwe. Nga bye bakola bw'abimanyi, abavuunika kiro n'abazikiriza. Abakubira mu maaso g'abantu, ng'abalanga ebibi byabwe. Kubanga balekayo okumugoberera, ne batafaayo ku biragiro bye. Ne baleka abaavu okumukaabirira. N'awulira okukaaba kwabwe, nga bababonyaabonya. Bw'asalawo obutabaako ky'asalawo, ani ayinza okumusalira omusango okumusinga? Bw'akweka amaaso ge, ani ayinza okumulaba, ne bwe liba ggwanga oba omuntu? Omuntu atatya Katonda amuziyiza okufuga, waleme kubaawo asuula bantu mu katego. “Kirungi omuntu agambe Katonda nti: ‘Mbonerezeddwa, sikyaddamu kusobya. Njigiriza kye siraba. Oba nga nakola ekibi sikyaddamu kukikola.’ Oba owakana, olowooza nti Katonda yandibonerezza omuntu ng'oyo? Awo ggwe olina okusalawo, sso si nze. Kale yogera ky'omanyi. Abantu abategeevu bajja kuŋŋamba, ne buli muntu ow'amagezi anaawuliriza bye njogera ajja kuŋŋamba nti: ‘Yobu ayogeza butamanya, ne by'ayogera temuli magezi.’ Yobu awozesebwe mu bujjuvu, kubanga addamu ng'abantu ababi; kubanga ku bibi bye, ayongerako obujeemu. Anyooma Katonda ng'asinziira wakati mu ffe, n'ayogera olutakutuka.” Awo Elihu era n'agamba nti: “Olowooza nti kituufu okugamba nti: ‘Siriiko kye nvunaanibwa mu maaso ga Katonda?’ N'okubuuza Katonda nti: ‘Ekibi kyange kikukolako ki? N'obutakola kibi bungasizza ki?’ Nja kukuddamu ggwe, wamu ne mikwano gyo. Tunuulira eggulu, olabe. Weetegereze ebire ebyewanise okusinga w'otuuka. Bw'oyonoona, omukolako kabi ki? Ebibi byo bwe byeyongera obungi, bimukolako ki? Bw'obeera omwenkanya omuganyula ki? Oba ky'akufunako kye kiruwa? Obubi bwo buyinza kulumya muntu buntu nga ggwe. N'ebirungi by'okola gwe biyamba. Olw'okunyigirizibwa okungi abantu baleekaana. Bakaaba bafune ayamba okubawonya ab'amaanyi. Naye tewali agamba nti: ‘Katonda ali ludda wa eyantonda, asobozesa abantu okuyimba nga bali mu kaseera akazibu; akozesa ebisolo atuyigirize, akozesa n'ebinyonyi, atufuule abagezi.’ Kale bakaaba, naye Katonda taddamu, kubanga beekuza era babi. Bakaabira bwereere, Katonda tawuliriza byabwe. Era Omuyinzawaabyonna tatunulako gye bali. Kale olwo anaakuwulira atya bw'ogamba nti tomulaba? Era bw'ogamba nti omusango gwo guli mu maaso ge, era nti omulindirira? Era kaakano oba obusungu bwe tebuliiko gwe bubonereza, era tewali ky'afaayo ku bibi, Yobu ayogera bitaliimu nsa, ayongera kwogera by'atamanyi.” Awo Elihu n'ayongera n'agamba nti: “Ogira oŋŋumiikiriza mmale okukunnyonnyola, kubanga nkyalinayo kye njagala okwogera ku lwa Katonda. Nja kuleeta bye mmanyi okuva wano ne wali, okukakasa nti Omutonzi wange mwenkanya. Mazima sirimba mu bye njogera. Alina okumanya okujjuvu ye ali naawe. Katonda wa maanyi, era si munyoomi. Tewali ky'atategeera. Taleka babi kuyinaayina, naye abanyigirizibwa abawa ebibagwanidde. Abataliiko kye bavunaanibwa tabaggyaako liiso; naye ku ntebe awali bakabaka kw'abateeka ne bagulumizibwa ennaku zonna. Era bwe basibwa mu masamba Ne babonyaabonyezebwa, Katonda abalaga kye baakola, era nga bwe baasobya nga beekulumbaza. Azibula amatu gaabwe, bawulire by'abalabulamu, n'abalagira okuva mu bibi byabwe. Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalangako obulamu bwabwe nga balina emikisa, era nga basanyuka. Naye bwe batawulira, balizikirizibwa olumbe. Balifa olw'obutamanya bwabwe. Abo abatassaamu Katonda kitiibwa basiba obusungu ku mutima. Ne bw'ababonereza tebamusaba kubayamba. Bafa bakyali bavubuka. N'enkomerero y'obulamu ebasanga bali mu buswavu. Naye Katonda ayigiriza abantu ng'ayita mu kubonaabona kwabwe. Mu buyinike bwabwe mw'aggulira amatu gaabwe. “Katonda yakuggya mu buzibu n'akuwonya okutawaanyizibwa. Olujjuliro lwo ne lujjula ebyokulya ebiwoomu. Naye kaakano osaliddwa omusango mu bujjuvu, nga babi banno abalala. Omusango gusaliddwa, tokyalina gy'ojulira. Weegendereze oleme okulimbibwa obugagga. Era enguzi ereme kukwonoona. Obugagga bwo tebuuyambe, wadde n'amaanyi go gonna, okukuwonya okubonaabona. Teweegomba kiro kujja amawanga mwe gazikirizibwa amangwago. Weegendereze oleme kukola bibi. Okubonaabona kwo kwajja kukutangira mu ekyo. “Laba Katonda bw'alina obuyinza obungi! Ani amwenkana mu kuba omuyigiriza? Ani amubuulira eky'okukola? Oba ani ayinza okumugamba nti: ‘Ky'okoze si kituufu?’ Jjukira okumutenderezanga olw'ebyo bye yakola. Abantu bye batenda mu nnyimba. Abantu bonna babiraba. Naye nga babirengerera wala. Laba Katonda bw'ali omukulu, era tetumumanya kimala! Emyaka gye tegibalika. Atwala waggulu amatondo g'amazzi ne gakenenukamu enkuba okuva mu lufu lwe, ebire gye biyiwa n'etonnyera abantu mu bungi. Era waliwo ategeera ebire bwe bibikkibwa ku ggulu, wadde ategeera okubwatuka kw'eggulu lye? Asaasaanya okumyansa kw'eggulu okumwetooloola. Naye obuziba bw'ennyanja n'abubikkako enzikiza. Atonnyesa enkuba n'aliisa abantu, n'abawa emmere nnyingi. Akwata okumyansa kw'eggulu mu kibatu kye N'alagira kukube gy'akwolekeza. Okubwatuka kw'eggulu kulaga nti kibuyaga asembedde. N'ente zimanya nti ajja. Kibuyaga ankankanya omutima, ne guntundugga. Muwulire okubwatuka kw'eddoboozi lya Ddunda! N'okududuma okuva mu kamwa ke! Akusindika wansi w'eggulu lyonna. N'okumyansa kwe kubuna enkomerero y'ensi. Olwo eddoboozi lye liwuluguma, ne libwatuka n'entiisa. Liwulirwa, nga n'okumyansa bwe kugenda mu maaso. Okubwatuka kw'eddoboozi lya Katonda kwa kitalo! Akola ebikulu, ebitulema okutegeera! Kubanga alagira omuzira nti: ‘Gwa ku nsi’; n'ekire ky'enkuba nti: ‘Tonnya n'amaanyi.’ Ayimiriza emirimu gya buli muntu, abantu bonna be yatonda, bamanye by'akola. Ebisolo bigenda gye byekweka, ne bibeera mu mpuku zaabyo. Embuyaga n'eva mu bukiikaddyo, n'empewo n'eva mu bukiikakkono. Katonda assa omukka ne guleeta omuzira. Amazzi ne gakwata ng'ejjinja. Ekire ekikutte akijjuza amazzi. Ebire bibunya wonna okumyansa kwe. Ebire byetooloola eno n'eri nga bw'aba abiragidde. Bikolera ku biragiro bye buli wantu gye biraga. Atonnyesa enkuba okufukirira ensi. Olumu agitonnyesa lwa kubonereza bantu. Olumu kaba kabonero akalaga ekisa kye. Yobu, wulira kino: siriikirira olowooze ku by'ekitalo, Katonda bye yakola. Omanyi Katonda bw'alagira ebire, okumyansa ne kuvaayo mu byo? Omanyi ebire bwe biseeyeeyera mu bbanga, ekiraga obukugu bwa Katonda obwekitalo? Otuuyanira mu byambalo byo ng'obudde bulimu ebbugumu, olw'embuyaga eva mu bukiikaddyo. Oyinza okukwatirako Katonda okubamba eggulu, ne limasamasa ng'endabirwamu? Tuyigirize bye tuba tumugamba, tetuliiko kye tumanyi. Tuli ng'abali mu kizikiza. Bakimugambe nti njagala okwogerako naye? Mba nneenoonyeza kusaanyizibwawo? Embuyaga bw'emala okwerawo ebire, kizibu okutunula mu kitangaala ekitangalijjira ku ggulu. Mu bukiikakkono ye eva okwakaayakana okuli nga zaabu. Ekitiibwa kya Katonda kitukuba entiisa! Omuyinzawaabyonna okumanya wa buyinza nnyo, tetuyinza kumusemberera. Asala mu bwenkanya era mwesimbu. Tatulugunya bantu. Abantu kyebava bamutya. Tassa mwoyo ku abo abeerowooza okuba abagezi.” Awo Mukama n'addamu Yobu ng'asinziira mu mbuyaga ey'amaanyi, n'agamba nti: “Ani oyo aziyiza entegeka yange okutegeerekeka, ng'ayogera ebiraga obutamanya? Kale weesibe ekimyu ng'omusajja, onziremu bye nkubuuza. “Wali oli ludda wa bwe nassaawo emisingi gy'ensi? Mbuulira, oba okitegeera. Ani yasalawo bw'enenkana obunene? Oba ani yagipimisa omuguwa? Tolema ggwe kumanya. Emisingi gyayo giri ku ki? Oba ani yasimba ejjinja lyayo ery'omu nsonda, emmunyeenye z'oku makya bwe zaayimbira awamu ne bannaggulu, ne baleekaana olw'essanyu? Oba ani yaggalira ennyanja enzigi, bwe yawaguza ng'ekiva mu nda ya nnyina waakyo? Nze nafuula ebire ekyambalo kyayo, n'ekizikiza ekikutte ne nkifuula obugoye obugibikka. Nagiteerawo ekkomo lyayo, Ne nteekawo enzigi n'ebisiba. Ne ngigamba nti: ‘Okomanga wano, era tosukkangawo. N'amayengo go agasuukiira we ganaaziyirizibwanga.’ “Bukya obaawo, wali olagidde emmambya ejje era olunaku lukye, ekitangaala kibune buli kanyomero ka nsi, kigobewo ababi beekweke? Olwo ensi evaayo n'erabika ng'eri ng'ekyambalo, ekya langi ennyingi. Ababi ekitangaala kibamalako eddembe, ne baziyizibwa okukola eby'obukambwe. Wali otuuse ebuziba, awali ensulo z'ennyanja? Wali otambulidde wansi eyo ku ntobo y'ennyanja? Waliwo eyali akulaze enzigi z'emagombe, eziyingira mu kizikiza awakuumirwa abaafa? Wali otegedde ensi bw'eri obugazi? Nziramu oba byonna obimanyi. Omanyi ekkubo erituusa awasula ekitangaala? Ekizikiza bwe kivaawo kiraga wa? Oyinza okubiggyayo mu kifo kyabyo? Era otegeera amakubo agatuusa gye bisula? Omanyi, kubanga wali muzaale mu bbanga eryo! Nga mingi emyaka gy'owangadde! Wali oyimiridde mu mawanika ng'omuzira? Wali olabye awaterekebwa amayinja ag'omuzira, ge nterekera ekiseera ekizibu, olunaku lw'obulwa n'otulo? Kkubo ki erituusa mu kifo omwawukanira ekitangaala? Oba embuyaga z'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi? Ani yatema ku ggulu emikutu enkuba mw'eyita eyiike? Oba ekkubo ly'okubwatuka kw'eraddu? Ani atonnyesa enkuba mu bitundu ebitabeeramu bantu? N'etonnya mu ddungu omutaba muntu n'omu, okufukirira ensi eyazika enkalu erekeddwa awo, emeremu omuddo omuto? Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani azaala amatondo g'omusulo? Omuzira guva mu nda ye ani? N'omusulo ogutonnyerera ng'olukubakuba ne gukwata, ani aguzaala? Amazzi gafuuka amakalubo ng'ejjinja, ne kungulu w'ennyanja ne wakwata. Oyinza okusiba ekikuukuulu ky'emmunyeenye ekiyitibwa Kakaaga? Oba okusumulula emiguwa egigatta ezo eziyitibwa Omuyizzi? Oyinza okufulumya emmunyeenye zirabikire mu budde bwazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Ddubu ennene n'abaana baayo? Omanyi ebiragiro ebifuga mu ggulu? Oyinza okubikozesa okufuga ne mu nsi? Oyinza okuboggolera ebire okubiragira bikubunduggulireko amazzi? Oyinza okuweereza ebimyanso by'eggulu bigende, ne bikugamba nti: ‘Tuutuno?’ Ani yateeka mu bire amagezi, ag'okutonnyesa enkuba? N'eyawa olufu okutegeera engeri gye lunaagwangamu? Ani ayinza okukozesa amagezi n'abala ebire? Oba ani ayinza okuttulula amaliba g'omu ggulu ago, enfuufu n'efuuka ettosi, ebitoomi ne byekwata? “Onooyiggira empologoma enkazi by'erya? Oba onoogabirira empologoma ento ozikkuse, bwe zeebaka mu mpuku zaayo, oba bwe zibwama mu bisaka okuteega? Ani aliisa binnamuŋŋoona bwe bitambulatambula okunoonya emmere, ng'abaana baabyo bankaabirira? “Omanyi ebiseera engabi ez'omu nsozi mwe zizaalira? Oba wali weetegerezza empeewo bw'ezaala? Oyinza okubala emyezi gye zimala n'amawako? Oba omanyi ebbanga lye zizaalirako, lwe zifukamira ne zizaala abaana baazo, ne ziryoka ziwona obulumi? Abaana baazo bafuna amaanyi, ne bakulira mu ttale ebweru. Bagenda ne batakomawo we ziri. Ani yata entulege n'aleka ebe ya ddembe? Eyagiyimbula ye ani, edduke nga bw'eyagala? Nze nagiwa eddungu okuba amaka gaayo, n'ensi y'omunnyo okuba ekifo kyayo. Oluyoogaano lw'ekibuga terwetaaga. Tewuliriza mugobi alagira na bboggo. Etaayaaya mu nsozi, lye ddundiro lyayo, era mwe yeenoonyeza buli kibisi ky'erya. Embogo enekkiriza okukuweerezanga ggwe? Erisulako awali emmanvu ebisolo mwe biriira? Oyinza okugisiba olukoba ekutemere ebikata? Oba ekusikire enkumbi ekulimire ebisenyi? Onoogyesiga olw'amaanyi gaayo g'erina amangi? N'ogirekera omulimu gw'eneekukolera? Ogyesiga nti ekomawo ekuleetere ensigo zo mu gguuliro lyo? “Ebiwaawaatiro bya maaya ebizinyisa ng'esanyuka. Naye ebiwaawaatiro byayo ebyo n'ebyoya byayo, biba n'ekisa? Kubanga ereka amagi gaayo ku ttaka gabugumizibwe musenyu. Ne yeerabira nti ekigere kiyinza okugabetenta, oba ekisolo okugalinnyirira. Eyisa bubi abaana baayo, ng'abatali b'ezaala. N'eraga nti tefaayo kuteganira bwereere. Kubanga saagikkiriza kubeera na magezi. Era saagiwa kutegeera. Naye bw'etandika okudduka temanya mbalaasi na mwebagazi! Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi, n'obulago obukankanya olugiŋŋirima? Ggwe ogibuusa ng'enzige n'eba n'okufugula okw'entiisa? Esamba n'obukambwe mu kiwonvu, Efubutuka okulumba ebyokulwanyisa by'omulabe. Temanyi kiyitibwa kutya. Tedda mabega olw'ekitala. Ensawo y'obusaale, n'effumu erimyamyansa, n'omuwunda, bikubaganira ku yo. Efuumuuka emisinde mu busungu obungi, tetereera ng'ewulidde eŋŋombe. Buli lwe bafuuwa eŋŋombe, n'efugula nti: ‘Otyo!’ Olutalo n'okuleekaana kw'abaduumizi ebikonga ng'ekyali wala. Ggwe oyigiriza magga okutumbiira, n'abamba ebiwaawaatiro bye, ayolekere obukiikaddyo? Ggwe olagira empungu okulinnya n'ekola ekisu kyayo waggulu mu nsozi entumbiivu? Ezimba mu mpompogoma z'enjazi engulumivu, n'ebeera eyo. Eyo gy'esinziira okuketta ky'enetta erye, Amaaso gaayo ne gakirengerera wala. Abaana baayo banywa omusaayi. Awali ekifudde, yo w'ebeera.” Mukama era n'agamba Yobu nti: “Anoonya ensobi, anaavunaana Omuyinzawaabyonna? Oyo awakana nange kale anziremu.” Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama nti: “Siriimu kaabuntu; Nnaakuddamu ntya? Ka nkwate ku mumwa nsirike busirisi. Nayogedde omulundi gumu, sijja kuddamu. Oba ebiri, naye sikyayongedde.” Awo Mukama n'addamu Yobu, ng'asinziira mu mbuyaga ey'amaanyi, n'agamba nti: “Kale weesibe ekimyu ng'omusajja, nkubuuze ebibuuzo, onziremu. Onootuuka n'okukyusa ensala yange? Onoosalira nze omusango okunsinga, ggwe oba obeera omutuufu? Wenkana nange amaanyi? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi eriri ng'eryange? Kale weetimbe obukungu n'olwetumbu. Yambala ekitiibwa n'obukulu. Laga obusungu bwo obuyitirivu, otunuulire buli mwepansi omubonereze. Ddala tunuulira buli mwepansi omukkakkanye Olinnyirire ababi awo wennyini we bali. Bavumbike bonna wamu mu nfuufu. Basibire mu kifo ekikwekeddwa. Olwo nange nnaakutendereza nti obuyinza bwo buwangudde. “Kale laba envubu gye natonda nga bwe natonda ggwe. Erya muddo ng'ente. Amaanyi gaayo gagiri mu kiwato, Ne mu nnyama y'oku lubuto lwayo. Ekakanyaza omukira ne gwesimba ng'omuvule. Ebinywa by'amagulu gaayo byasibagana. Amagumba gaayo gali ng'enseke ez'ekikomo, Amagulu gaayo gali ng'emitayimbwa. Y'esooka mu nsolo zonna ze natonda. Omutonzi waayo ye yekka ayinza okugisemberera n'ekitala. Naye ensozi okuzannyira ebisolo byonna, ze zigyaliza by'erya. Egalamira wansi w'obuti obw'amaggwa; yeekweka mu bitoogo, mu lutobazzi. Yeggama mu bisiikirize by'obuti obw'amaggwa; Ne mu myerebu egy'oku myala gy'amazzi. Omugga bwe gwanjaala, tetya. Eguma omwoyo, Yorudaani ne bwe gujjula okutuuka ku kamwa kaayo. Waliwo ayinza okugikwata ng'etunula? Oba ayinza okugikwasa ku mutego n'ogifumita ennyindo? “Goonya oyinza okugivubisa eddobo, oba okusiba olulimi lwayo n'omuguwa? Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo, Oba okuwummula oluba lwayo n'eddobo? Eneekwegayirira ogikwatirwe ekisa, n'eyogera naawe bulungi ogireke? Eneekola naawe endagaano ebeerenga muweereza wo ennaku zonna? Onoozannyanga nayo nga bw'ozannya n'ekinyonyi? Oba onoogisibiranga abaweereza bo abawala ebasanyuse? Abavubi banaagiramuzanga? Abasuubuzi banaagitemaatemanga okugitunda? Oyinza okugifumita effumu ne liyita mu ddiba lyayo? Oba omutwe gwayo n'ogufumita emiwunda egiswaga ebyennyanja? Geza ogikooneko, tolikiddira lulala! Era olutalo tolirwerabira! N'okugiraba obulabi omuntu taba na ssuubi. n'agwa ku ttaka wansi. Tewali aba na buvumu bwa kusaggula goonya. Olwo kale aguma ye ani okuyimirira we ndi? Ani yasooka okumpa gwe nnina okuddiza? Buli ekiri wansi w'eggulu kyange. “Siireme kwogera ku magulu gaayo, ne ku maanyi gaayo, ne ku nkula yaayo ennungi. Ani ayinza okugyambulamu ekyambalo kyayo ekyokungulu? Ani afumita n'ayita mu ddiba lyayo ery'embu ebbiri? Ani ayinza okwasamya akamwa kaayo? Amannyo gaayo nga ga ntiisa! Amagalagamba gaayo ag'amaanyi ge gagyewuliza. Gasibaganye ganywezeddwa akabonero ng'ak'envumbo. Erimu liriraana linnaalyo, ne watasigala kaagaanya wadde n'empewo eyitemu. Geegasse ne gakwatagana, tegayinza kwawulibwa. Bw'ekuba emyasi, givaamu ekitangaala. Amaaso gaayo gamyuka nga njuba evaayo. Akamwa kaayo kavaamu mimuli egyaka. Kabuukamu nsasi ez'omuliro. Ennyindo yaayo evaamu omukka ng'oguva mu ntamu etokota, ne mu kisaalu ekyaka. Omukka gw'essa gukuma amanda, ennimi ez'omuliro ne ziva mu kamwa kaayo. Erimu amaanyi mu nsingo. Etiisa n'ekankanya buli agyaŋŋanga. Enfunyiro z'ennyama yaayo zeekutte zigyerippyeko awatali kusagaasagana. Omutima gwayo gwakula nga jjinja; ddala mugumu nga lubengo. Bw'egira eti n'esituka, wadde balubaale batya! Beekanga ne babulwa eky'okukola. Agisimbako ekitala, tagireetako kamogo. Effumu n'omuwunda wadde akasaale, bya bwereere! Eby'ekyuma ebibala nga bisasiro; eby'ekikomo, miti gya mpumbu. Toyinza kugigobesaawo kasaale. Amayinja g'envuumuulo gaba nga bisusunku ku yo. Embuukuuli z'emiggo nazo ku yo bisusunku. Esekerera amafumu ge bakasuka okugifumita. Amagalagamba g'oku lubuto lwayo gali ng'enzigyo ez'obwogi. Bwe yeekulula mu bitosi eba ng'ebiwuula eŋŋaano eby'ekyuma. Bw'eyingira amazzi, esiikuula ennyanja n'eba ng'entamu etokota, era ng'akasaka omweserera omuzigo. Amazzi mw'eyise, erekamu ekkubo ly'amayengo ameeru. N'erowoozesa n'oli, obuziba okuba n'envi. Tewali kigyenkana ku nsi. Yatondebwa teriimu kutya. Eziimuula buli kisolo ekyepansi; Ye kabaka w'ensolo zonna.” Awo Yobu n'addamu Mukama ng'agamba nti: “Mmanyi ng'oyinza byonna. Era ky'oba osazeewo okukola, tewali kikiziyiza. Obuuzizza nti: ‘Ono ani aziyiza entegeka zo okutegeerekeka, ng'ayogeza obutamanya?’ Ddala nayogedde ku bintu bye sitegeera, ebimpitiriddeko, ebyannemye okumanya. Oŋŋambye nti: ‘Wuliriza njogere Nkubuuze ebibuuzo onziremu.’ Nawuliranga buwulizi bye bakwogerako, Naye kaakano nkwerabiddeko n'agange. N'olwekyo nneemenye ne nneenenya mu nfuufu n'evvu.” Awo Mukama bwe yamala okwogera ne Yobu ebigambo ebyo, n'agamba Elifaazi Omutemani nti: “Nkusunguwalidde nnyo ggwe ne banno bombi, kubanga temunjogeddeeko bituufu ng'omuweereza wange Yobu bw'ayogedde. Kale kaakano mutwale ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu eri omuweereza wange Yobu, muweeyo ku lwammwe ekiweebwayo ekyokebwa. Omuweereza wange Yobu abasabire. Oyo gwe nnakkiriza, nneme kubakolako mmwe, ng'obusirusiru bwammwe bwe busaanira, kubanga temunjogeddeeko bituufu ng'omuweereza wange Yobu by'ayogedde.” Awo Elifaazi Omutemani, ne Biludaadi Omusuuhi, ne Zefari Omunaamati ne bagenda, ne bakola nga Mukama bw'alagidde. Mukama n'akkiriza Yobu bye yabasabira. Awo Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye, Mukama n'amuddizaawo obugagga bwe, era n'amuwa bungi emirundi ebiri okusinga bwe yalina olubereberye. Awo baganda ba Yobu bonna ne bannyina, ne bajja, ne baliira wamu naye ekijjulo mu nnyumba ye. Ne bamukubagiza olw'ebizibu byonna, Mukama bye yamutuusaako. Buli omu ku bo n'amuleetera ekitundu kya ffeeza n'empeta eya zaabu. Mukama n'awa Yobu omukisa mu kiseera ky'obulamu bwe ekyasembayo, okusinga ne mu kyasooka. Yobu n'aba n'endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n'eŋŋamiya kakaaga, n'emigongo gy'ente lukumi egikola emirimu, n'endogoyi enkazi lukumi. Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu. Omuwala asooka n'amutuuma Yemima, owookubiri erinnya lye Keziya, n'owookusatu erinnya lye Kereni Happuki. Mu nsi yonna tewaali bakazi balungi babalagavu nga bawala ba Yobu. Kitaabwe n'abawa omugabo gw'obusika, awamu ne bannyinaabwe. Ebyo bwe byaggwa, Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba abaana be n'abazzukulu, okutuuka ku bannakasatwe. N'oluvannyuma Yobu n'afa nga musajja mukadde, ow'emyaka emingi ddala. Wa mukisa oyo atakolera ku magezi ga babi oba okukwata ekkubo ly'aboonoonyi, wadde okutuula awamu n'abanyoomi. Wabula amateeka ga Katonda ge gamusanyusa, era g'alowoozaako emisana n'ekiro. Afaanaanyirizibwa n'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo z'amazzi, ogubala ebibala mu kiseera kyabyo, era ogutawotoka makoola. Mu buli ky'akola aba wa mukisa. Naye ababi si bwe bali. Bafaanaanyirizibwa n'ebisusunku ebifuumuulibwa embuyaga. Ababi abo kyebaliva balemwa okugumira olunaku olw'okusalirwako omusango, wadde okwetaba awamu n'abatuukirivu. Kubanga Mukama aluŋŋamya abatuukirivu. Naye ababi balizikirira. Lwaki amawanga geegugunga, n'abantu ne balowooza ebitaliimu? Bakabaka b'ensi baateekateeka, n'abafuzi bateeseza wamu okulwanyisa Mukama n'omusiige we nga bagamba nti: “Ka tukutule enjegere zaabwe, tweggyeko ekikoligo kyabwe.” Mukama ng'ali waggulu abasunga era abasekerera. Olwo n'abagamba ng'asunguwadde, n'abatiisa ng'aswakidde nti: “Ku lusozi lwange olutukuvu Siyooni, nateekako kabaka.” “Nja kulangirira ekiragiro kya Mukama. Mukama yagamba nti: ‘Oli mwana wange, olwaleero nkuzadde. Nsaba, nze ndikuwa amawanga gonna n'ensi yonna, bibe bibyo. Olibimenya n'omuggo ogw'ekikomo, olibyasaayasa ng'entamu y'omubumbi.’ ” Kale kaakano bakabaka mugeziwale, abafuzi b'ensi muyige. Muweereze Mukama nga mutya. Mumusseemu ekitiibwa nga mukankana, sikulwa ng'asunguwala ne muzikirira. Obusungu bwe tebulwa kusituka. Ba mukisa abo bonna abamweyuna. Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Bangi abasituka okunnumba. Bangi abanjogerako nti: “Katonda taamuyambe.” Naye ayi Mukama, ggwe ngabo enkuuma. Ggwe nneenyumiririzaamu, ggwe ompanirira. Nkoowoola Mukama, n'anziramu ng'asinziira ku lusozi lwe olutukuvu. Ngalamira ne neebaka, ne nzuukuka, kubanga Mukama ankuuma. Sitya nkumi na nkumi z'abalabe abanneetooloola okunnumba. Ayi Mukama, jjangu ondokole, ayi Katonda wange! Ggwe okuba abalabe bange empi ku ttama, n'omenya amannyo g'aboonoonyi. Mukama, era ggwe olokola, n'owa abantu bo omukisa. Ayi Katonda, ggwe onnyamba, bwe nkukoowoola onziramu. Kati nkwatirwa ekisa, owulire kye nsaba. Mmwe abantu mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okukolera ku by'obulimba? Mumanye nti Mukama abamwagala abalonze okuba ababe. Mukama bwe mmukoowoola, ampulira. Mmwe mutye, mulekere awo okwonoona. Musiriikirire mulowooze nga mwebase mu bitanda byammwe. Muweeyo ebitambiro ebisaanira, era mwesige Mukama. Bangi abagamba nti: “Ani alitulaga ebirungi? Tutunuulize ekisa, ayi Mukama.” Ompadde essanyu eritafunibwa balala mu kyengera ky'emmere n'omwenge. Ngalamira ne neebaka mirembe, kubanga, ayi Mukama, ggwe onkuuma ne sitya. Wulira bye ŋŋamba, ayi Mukama, tegereza omulanga gwange. Wulira okwegayirira kwange, ggwe Kabaka wange era Katonda wange. Ku makya owulira eddoboozi lyange. Enjuba ng'evaayo nkusaba, ne nnindirira ky'ononziramu. Ggwe Katonda atasanyukira bikolwa bibi, akola ekibi tabeera naawe. Abeenyumiriza tobakkiriza mu maaso go, okyawa bonna abakola ebibi. Ozikiriza aboogera eby'obulimba; abatta abantu era n'ab'enkwe, Mukama obakyayira ddala. Naye nze, olw'ekisa kyo ekingi, nnaayingiranga mu nnyumba yo. Nnaasinzizanga mu Ssinzizo lyo ettukuvu, ne nkussaamu ekitiibwa. Ayi Mukama, nnuŋŋamya nkolenga ky'oyagala, kubanga nnina abampalana bangi. Ndaga bulungi ekkubo lyo lye mba nkwata. Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa, ekibali ku mutima kwe kukola ebibi. Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde, boogera bya kuwaanawaana. Ayi Katonda, basalire omusango okubasinga. Bo bennyini be baba bagwa mu mitego gyabwe. Bagobe mu maaso go olw'ebibi byabwe ebingi, kubanga bakujeemedde ggwe. Naye bonna abakwesiga basanyuke, bayimbenga n'essanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma. N'abakwagala basanyukirenga mu ggwe, kubanga, ayi Mukama, owa omukisa abakola by'oyagala. Ekisa kyo kibakuuma ng'engabo. Ayi Mukama, tonnenya ng'osunguwadde, era tombonereza ng'okambuwadde. Nsaasira ayi Mukama, kubanga amaanyi gampweddemu. Ayi Mukama, mponya, kubanga amagumba gankubagana. Omwoyo gwange gweraliikiridde nnyo. Naye ayi Mukama, olimala bbanga ki nga tonnannyamba? Komawo ayi Mukama, ondokole, omponye olw'ekisa kyo, kubanga abafu tebakujjukira. Ani alikutenderereza emagombe? Okusinda kunkooyezza. Buli kiro nkaaba amaziga nga ndi ku kitanda kyange, obuliri bwange ne mbutobya n'amaziga. Amaaso gange gakutteko ekifu olw'obuyinike. Gankambagga olw'abalabe bange bonna bankaabya. Muve we ndi mwenna abakola ebibi, kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange. Mukama awulidde okwegayirira kwange, akkirizza okumpa kye mmusaba. Abalabe bange bonna baliswala era balisoberwa, balivaawo mangu nga baswadde! Ayi Mukama Katonda wange, nzirukira gy'oli. Ndokola era mponya bonna abanjigganya, baleme kuntaagula ng'empologoma, ne nkavvulwa nga tewali anamponya. Ayi Mukama Katonda wange, oba nga nakola ekintu nga kino: nga nayonoona, oba nga nakola mukwano gwange ekintu ekibi, wadde okulumya omulabe wange awatali nsonga, kale omulabe anjigganye era ankwate, ansambajjire wansi ku ttaka era anzite, andeke nga ngalamidde mu nfuufu. Ayi Mukama, situka n'obusungu weesimbewo, olwanyise abalabe bange abakambwe. Golokoka ayi Mukama, ggwe eyalagira wabeewo obwenkanya. Abantu bonna bakuŋŋaane era bakwetooloole, obafuge ng'oli waggulu. Ayi Mukama, asalira abantu bonna omusango, sala omusango gwange nsinge, kubanga omanyi bwe siriiko musango. Ggwe Katonda omutuukirivu akebera emitima n'ebirowoozo, malawo ettima ly'ababi, onyweze abatuukirivu. Katonda ye ngabo mwe nneewogoma, alokola ab'omutima omulongoofu. Katonda asala emisango mu bwenkanya, bulijjo asunguwalira ababi. Bwe batakyuka ne beenenya, ajja kuwagala ekiso kye. Aleeze omutego gwe ogw'obusaale okulasa. Ategese ebissi ebiribatta, ayengerezza obusaale bwe. Laba omubi bw'alowooza okukola ekibi! Ajjudde ettima, era ayogera eby'obulimba. Obunnya bw'asima n'awuukuula, ye abugwamu yennyini. Ettima lye limuddira, n'obukambwe bwe bulumya ye yennyini. Nneebazanga Mukama kubanga mwenkanya, nnaayimbanga okutendereza Mukama Atenkanika. Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi yonna! Ettendo lyo lituuka ne ku ggulu. Liyimbibwa abaana abato n'abayonka. Wazimba ekigo okwetaasa abalabe bo n'okwegobako buli akulwanyisa. Bwe ntunuulira eggulu lye wakola, n'omwezi n'emmunyeenye bye wateekawo, ne nneebuuza nti, omuntu ataliiko bw'ali, lwaki omulowoozaako? Era omuntu obuntu, lwaki omulumirwa? Wamukola, n'abulako katono okwenkana ggwe Katonda. Wamutikkira engule eyeekitiibwa n'ettendo. Wamuwa okufuga ebintu byonna bye wakola. Ebintu byonna wabiteeka mu buyinza bwe: endiga zonna n'ente, era n'ebisolo eby'omu ttale, ebinyonyi n'ebyennyanja, n'ebitonde ebirala ebiri mu nnyanja. Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi zonna! Ayi Mukama, nnaakwebazanga n'omutima gwange gwonna, nnaatendanga byonna by'okola ebyewuunyisa. Nnaasanyukanga ne njaguliza mu ggwe, nnaayimbanga okukutendereza ggwe Atenkanika. Bw'olabika, abalabe bange badda emabega, ne bagwa ne bazirika, kubanga wayingira mu nsonga zange, n'osala omusango mu bwenkanya. Waboggolera abantu ab'ensi, n'ozikiriza ababi: tebakyaddayo kujjukirwa. Abalabe baffe baggweerawo ddala. Ebibuga byabwe wabizikiriza, ne beerabirirwa ddala. Naye Mukama ye Kabaka emirembe gyonna, yateekawo entebe ye kw'asalira emisango. Alamula ensi zonna mu bwenkanya, asalira amawanga gonna omusango mu mazima. Mukama kye kiddukiro ky'abanyigirizibwa, ekiddukiro mu biseera eby'obuyinike. Abakumanyi banaakwesiganga, ayi Mukama, kubanga abajja gy'oli tobaabulira. Muyimbe okutendereza Mukama abeera mu Siyooni, mubuulire abantu bonna by'akola, kubanga Katonda ajjukira ababonaabona, teyeerabira kukaaba kwabwe, era abonereza abababonyaabonya. Nkwatirwa ekisa, ayi Mukama! Laba abankyaye bwe bambonyaabonya. Mponya okugenda e Magombe ndyoke nnangirire ettendo lyo eri abantu ab'omu Siyooni, nsanyuke kubanga ondokodde. Abantu ab'ensi bagudde mu bunnya bwe baasima, bakwatiddwa mu mutego gwe baatega. Mukama yeeragidde mu ngeri gy'asalamu emisango, ababi bakwatiddwa mu ebyo, bo bennyini bye baakola. Ababi n'abo bonna abeerabira Katonda, ba kugenda emagombe. Abaavu tebeerabirwenga mirembe gyonna, abanaku tebasuubirira bwereere ennaku zonna. Jjangu ayi Mukama, tokkiriza bantu kukunyooma. Abantu ab'ensi baleetebwe mu maaso go basalirwe omusango. Ggwe batiise ayi Mukama, bamanye nti bantu buntu. Lwaki ayi Mukama, oyimirira ewala? Lwaki weekwese mu biseera eby'obuyinike? Ababi beekulumbaza ne bayigganya abaavu, ne babakwasa mu mitego gye bateze. Omubi yeewaana olw'okwegomba kwe okubi, ow'omululu yeegaana Mukama era amunyooma. Omubi yeekulumbaza n'agamba nti: “Mukama talinvunaana.” Alowooza nti Katonda taliiwo. Buli ky'akola kimugendera bulungi. Ennamula yo emusukkiridde, tagitegeera. Abalabe be abanyooma. Agamba mu mutima gwe nti: “Sirisagaasagana. Siribonaabona emirembe gyonna.” By'ayogera bijjudde okukolima, n'obulimba era n'obukambwe. Ayanguyira okwogera eby'ettima n'eby'enkwe. Yeekweka n'atuula ng'ateeze ku byalo, n'attira mu bunyomero abantu abatalina musango. Aliimisa alabe abateeyinza. Yeekweka n'ateega ng'empologoma mu mpuku yaayo. Akwata omwavu n'amutwala ng'amuwalulira mu kitimba kye. Akutama n'akootakoota ku ttaka, n'avumbagira abanafu n'amaanyi ge gonna, n'agamba mu mutima gwe nti: “Katonda yeerabidde, yeebisse ku maaso, tagenda kukiraba.” Ayi Mukama Katonda, jjukira abanaku, obayambe. Lwaki omubi anyooma Katonda, n'agamba mu mutima gwe nti: “Tajja kunvunaana”? Naye ggwe olaba; otunuulira ettima n'obukyayi, nga weetegese okuyamba. Ateesobola yeeteeka mu mikono gyo, bulijjo bamulekwa ggwe obayamba. Omubi era omwonoonyi mumale amaanyi, omalirewo ddala ebibi bye. Mukama ye Kabaka emirembe gyonna. Ab'amawanga agatamusinza ba kuzikirira mu nsi ye. Ayi Mukama, owulira abanaku bye bakusaba, ogumya emitima gyabwe. Onoowulirizanga bamulekwa n'abajoonyesebwa, olyoke obasalire omusango basinge, abantu obuntu balemenga kubatiisatiisa. Mukama gwe neesiga, ye ankuuma, muyinza mutya okuŋŋamba nti: “Buuka ng'akanyonyi olage mu nsozi?” Kubanga ababi baabano baleeze emitego, obusaale babutadde ku buguwa, balasize mu nzikiza abalina omutima omulongoofu. Oba nga buli kintu kizikirizibwa, kiki omuntu omulungi ky'ayinza okukola? Mukama ali mu Ssinzizo lye ettukuvu, entebe ye eri mu ggulu. Atunuulidde abantu bonna, era yeetegereza bye bakola. Mukama yekkaanya abalungi n'ababi. Akyayira ddala abaagala eby'obunyazi. Ababi abayiwako amanda g'omuliro n'obuganga, ababonereza n'empewo eyokya ennyo, kubanga Mukama mutuukirivu, ayagala ebikolwa ebirungi. Ababikola balibeera mu maaso ge. Ayi Mukama tuyambe, kubanga abalungi baweddewo, amazima gawedde mu bantu. Balimbagana ne bawaanagana, boogera kino nga bategeeza kirala. Ayi Mukama, sirisa aboogera ebiwaanawaana, ggala akamwa k'abo abeetenda, abagamba nti: “Olulimi lwaffe ge maanyi gaffe, tujja kwogera buli kye twagala. Ani ayinza okutuziyiza?” Mukama agamba nti: “Kubanga abaavu banyagibwako ebyabwe, n'abayigganyizibwa basinda, nja kusituka mbakuume nga bwe beegomba.” Mukama by'asuubiza bya mazima, biri nga ffeeza ayooyooteddwa mu kyoto ky'omuliro, n'atukuzibwa emirundi musanvu. Ayi Mukama, tukuumenga bulijjo, otuwonye ababi ab'omulembe guno. Ababi babunye buli wantu, ekibi kye kitendebwa mu bantu! Olinneerabira kutuusa ddi, ayi Mukama? Olinneekweka emirembe gyonna? Ndituusa wa okweraliikiriranga, n'okuwulira mu mutima obuyinike olunaku lwonna? Omulabe wange alituusa wa okunninnyako? Ayi Mukama Katonda wange, ntunuulira onziremu. Nzizaamu amaanyi, nneme kufa. Omulabe wange aleme okugamba nti: “Mmuwangudde.” Abankyawa baleme kujaganya nga nterebuse. Naye nze neesiga ekisa kyo, nnaasanyukanga kubanga olindokola. Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi bingi. Abasirusiru bagamba mu mitima gyabwe nti: “Tewali Katonda.” Boonoonese, bakoze ebibi ebyenyinyalwa, tewali n'omu akola kirungi. Mukama asinziira mu ggulu, n'atunuulira abantu, alabe oba nga waliwo abategeera, oba nga waliwo abanoonya Katonda. Naye bonna bawabye, bonna be bamu: boonoonyi. Tewali n'omu akola kirungi, wadde omu bw'ati. Bonna abakola ebibi, tebalina magezi? Bakavvula abantu bange ng'abalya emmere, era tebasinza Mukama. Naye balitya nnyo, kubanga Katonda ali wamu n'abatuukirivu. Ababi balemesa omwavu okutuukiriza by'ateesa, naye Katonda kye kiddukiro kye. Singa nno oyo aliwonya Yisirayeli alisibuka mu Siyooni! Mukama bw'alizzaawo embeera ennungi mu bantu be, aba Yakobo balisanyuka, Abayisirayeli balijaguza. Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu weema yo? Ani anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu? Ye oyo awulira Katonda mu byonna, era akola ebituufu bulijjo. Ye oyo ayogera eby'amazima omutali bukuusa, era atawaayiriza. Ye oyo atakolako banne kabi, era atasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be. Ye oyo anyooma abo abatasiimibwa Katonda, naye assaamu ekitiibwa abo abawulira Mukama. Ye oyo atuukiriza ky'asuubizza ne bwe kimufiiriza. Ye oyo awola nga tagenderera kufuna magoba, era atagulirirwa kusaliriza atalina musango. Akola ebyo, anaabeeranga munywevu emirembe gyonna. Ayi Katonda, nkuuma, kubanga neesiga ggwe. Ŋŋamba Mukama nti: “Ggwe Mukama wange, sirina kirungi na kimu ggwe w'otoli.” Nsanyukira nnyo abatukuvu, era be njagala okubeeranga nabo mu nsi. Abanoonyaayo Katonda omulala be beeyongerako bennyini okunakuwala. Sijja kwetaba nabo mu kutambira kwabwe, sijja kusinza balubaale baabwe. Ayi Mukama, ggwe nnonze, ggwe wange. Ebyange byonna biri mu ggwe. Ebintu byonna biŋŋendedde bulungi, omugabo gwange mulungi ddala. Neebaza Mukama ambuulirira, ate ekiro omutima gwange gundabula. Mmanyi nti Mukama ali nange bulijjo, andi kumpi, sijja kusagaasagana. Kyenva nsanyuka ne njaguza, nzenna ne mbeera mirembe, kubanga tolindeka magombe, era toliganya mutukuvu wo kuvunda. Olindaga ekkubo erituusa mu bulamu. Njijula essanyu okubeera w'oli. Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna. Ayi Mukama, wulira okuwoza kwange okw'amazima, tega okutu owulirize bye nkusaba, nga sirina bukuusa. Ggwe oba osala omusango ngusinge, kubanga ggwe olaba ekituufu. Omanyi ekiri mu mutima gwange, ne bw'ojja gye ndi ekiro n'ongeza, tojja kunsangamu kabi. Sirina kibi kye njogera, ng'abangi bwe bakola. Mpulira ebiragiro byo, ne neewala amakubo g'abanyazi. Bulijjo ntambulira mu kkubo lye wandaga, sirivaamu n'akatono. Nkoowoola ggwe ayi Katonda, kubanga ggwe ononziramu. Tega okutu kwo, owulire bye ŋŋamba. Laga ekisa kyo ekyewuunyisa, ggwe alokola abaddukira gy'oli okuwona abalabe baabwe. Nkuuma nga bw'okuuma emmunye y'eriiso lyo, nkweka mu kisiikirize ky'ebiwaawaatiro byo, omponye ababi abannyaga, abalabe bange abanzingiza okunzita. Tebalina kisa era beewaanawaana. Kaakano banzingizizza buli gye nzira, bandabiriza amaaso, balyoke bankube wansi. Bali ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo bali ng'empologoma ento eyeekweka n'eteega. Jjangu, ayi Mukama, olwanyise abalabe bange, obawangule. Mponya omubi ng'okozesa ekitala kyo. Ayi Mukama, mponya abantu abalowooleza mu kufuna ebintu eby'ensi. Embuto zaabwe ozijjuze bye wabateekerateekera, abaana baabwe bafune ebibamala, wafikkewo n'ebirimala abazzukulu. Naye nze ndikutunulako kubanga sazza musango. Era ndimatira bwe ndizuukuka ne nkulaba. Nkwagala ayi Mukama, ggwe maanyi gange. Mukama ye ankuuma, ye antaasa era ye andokola. Katonda wange kye kiddukiro kyange, ye antaasa ng'engabo, ye wa maanyi andokola n'ankuuma. Mukama asaanira okutenderezebwa: mmukoowoola n'amponya abalabe bange. Nali neetooloddwa akabi ak'okufa, amayengo ag'okunzikiriza ne ganjiikako. Emiguwa egy'emagombe gyanneetooloola, emitego gy'olumbe ne gintaayiza. Mu buyinike bwange nakoowoola Mukama, ne mpita Katonda wange okunnyamba. Yawulira eddoboozi lyange mu Ssinzizo lye, n'awuliriza bwe namusaba annyambe. Ensi yayuuguuma, n'ekankana. Emisingi gy'ensozi gyajugumira, ne ginyeenyezebwa, nga Katonda asunguwadde. Omukka gwanyooka mu nnyindo ze, omuliro ogusenkenya era n'amanda agaaka ne biva mu kamwa ke. Yakutamya eggulu n'akka, ekizikiza ekikutte ennyo nga kiri wansi w'ebigere bye. Yeebagala kerubi n'abuuka, n'agendera mangu ku biwaawaatiro by'embuyaga. Yeebikka ekizikiza, ne kimukweka. Ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola. Amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro byava ku kumyansa okuli mu maaso ge, ne biyita mu bire ebikutte. Mukama era yabwatuka mu ggulu, eddoboozi ly'Atenkanika ne liwulirwa. Ne wabaawo amayinja ag'omuzira, n'amanda ag'omuliro. Yalasa obusaale bwe, abalabe be n'abasaasaanya, n'abagoba n'okumyansa okungi. Bwe wakayukira abalabe bo, ayi Mukama, era bwe wababoggolera mu busungu bwo, entobo y'ennyanja n'erabika, n'emisingi ensi kw'enyweredde ne gyeyerula. Mukama yasinziira mu ggulu n'agolola omukono gwe n'ankwata, n'anzigya mu mazzi amangi. Yamponya abalabe bange ab'amaanyi, n'abo abankyawa, abansinza amaanyi. Bannumba nga ndi mu buzibu, naye Mukama ye yankuuma. Yantuusa mu kifo ekigazi, n'amponya kubanga yanjagala. Mukama yampa empeera, kubanga nakola ebirungi. Yampa omukisa, kubanga saalina musango, kubanga nawulira amateeka ga Mukama, ne siva ku Katonda wange nga nkola ekibi. Nakwata ebiragiro bye byonna, saajeemera mateeka ge. Era saalina musango mu maaso ge, nneekuuma ne sikola kibi. Mukama kyavudde ampa empeera, kubanga nkola ebirungi. Ampadde emikisa, kubanga sirina musango mu maaso ge. Oli mwesigwa eri abo abeesigwa, oli mutuukirivu eri abatuukirivu. Oli mulongoofu eri abalongoofu, naye oli mulabe eri ababi. Olokola abo abanyoomebwa, naye otoowaza abeekulumbaza. Ayi Mukama Katonda wange, ompa ekitangaala, n'ongobako ekizikiza. Ggwe onnyamba okulumba eggye ly'abalabe bange. Ggwe ompa amaanyi okuwangula ekigo kyabwe. Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, ebyo by'asuubiza byesigibwa. Ye ataasa bonna abamwesiga. Mukama ye Katonda yekka, era Katonda waffe, ye yekka atutaasa. Katonda ampa amaanyi, ye andagirira ekkubo eritaliimu kabi. Ebigere byange abinyweza okutambula ng'eby'empeewo. Ankuumira waggulu ku nsozi. Anjigiriza okulwana, ne nsobola okuleega omutego ogw'ekikomo. Ayi Mukama, onkuuma era ondokola. Ompaniridde. Era obukkakkamu bwo bungulumizizza. Ogaziyirizza ebigere byange ekkubo, siiseererenga kugwa. Ngoba abalabe bange ne mbakwata, sikomawo nga sinnabazikiriza. Mbakuba wansi ne batayinza kuyimukawo, bagwa wansi ne mbalinnyako. Ompa amaanyi okulwana, ne mpangula abannumba. Waleetera abalabe bange okunziruka, abo abankyawa nabazikiriza. Baakoowoola ow'okubayamba ne wataba abawonya. Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu. Mbasekulasekula ne bafuuka ng'enfuufu etwalibwa empewo, ne mbalinnyirira ng'ebitosi eby'omu nguudo. Omponyezza okwegugunga kw'abantu, n'onfuula omufuzi w'amawanga. Abantu be saamanyanga balimpeereza. Ab'amawanga amalala balinfukaamirira, oluliwulira ebigambo byange baliŋŋondera. Baliggwaamu amaanyi, baliva mu bifo byabwe bye beekwekamu, ne bajja nga bakankana. Mukama mulamu! Ye antaasa, atenderezebwe! Era Katonda andokola agulumizibwe! Ye Katonda ansobozesa okuwangula abalabe bange, n'awangula amawanga ngafuge, n'amponya abampalana. Ayi Mukama, onsobozesa okufufuggaza abalabe bange, omponya abantu abajjudde obukambwe. Kyennaavanga nkutenda mu mawanga, nnaayimbanga okukutendereza. Katonda gw'awadde obwakabaka amuwa obuwanguzi obw'amaanyi. Akwatirwa ekisa omusiige we Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna. Eggulu liraga ekitiibwa kya Katonda, n'ebiri mu bbanga byoleka omulimu gwe. Buli lunaku oluggwaako lukibuulira oluddirira. N'ekiro ekiba kiggwaako kikimanyisa kinnaakyo. Tebirina bigambo wadde emboozi, eddoboozi lyabyo teriwulirwa. Naye obubaka bwabyo bubunye mu nsi yonna, n'amakulu gaabyo gatuuka gy'ekoma. Ku ggulu Katonda kwe yateeka ekisulo ky'enjuba, eri ng'awasa omugole, bw'ava mu nnyumba ye ng'asanyuka, era ng'eri ng'omusajja ow'amaanyi, n'etandika olugendo lwayo. Evaayo ku ludda olumu olw'eggulu, n'eryetooloola okutuuka ku ludda olulala. Tewali kyekweka bbugumu lyayo. Etteeka lya Mukama lyatuukirira, lizzaamu amaanyi. Mukama by'alagira byesigika, biwa abatamanyi amagezi. Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu, kusanyusa omutima. Ekiragiro kya Mukama kitukuvu, kitangaaza amaaso. Okussaamu Mukama ekitiibwa kulungi, kusigalawo emirembe n'emirembe. Ensala Mukama gy'asalamu emisango, ya mazima era ntuufu ddala. Ebyo bisaanye okuyaayanirwa okusinga zaabu akira obulungi. Biwoomerevu okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo. Era ebyo bye birabula omuweereza wo. Okubikuuma kulimu empeera nnene. Naye ani ayinza okumanya ensobi ze? Nnaazaako ebibi ebikisiddwa. Nze omuweereza wo mponya okwekulumbaza kulemenga okunfuga. Bwe ntyo mbe nga siriiko kye nvunaanibwa, nga sirina musango munene. Siima ebigambo byange n'ebirowoozo byange ayi Mukama ekiddukiro kyange, era omununuzi wange. Mukama akuwe by'omusaba ng'oli mu buzibu. Katonda wa Yakobo akutaase. Akuyambe ng'asinziira mu kifo ekitukuvu, akubeere ng'asinziira mu Siyooni. Ajjukire bye wawaayo byonna, akkirize ebitambiro byo ebyokye. Akuwe bye weegomba, atuukirize byonna by'oteesa. Tuleekane olw'essanyu ng'owangudde, tuwanike ebbendera zaffe nga tutendereza Mukama. Mukama akuwe byonna by'osaba. Kaakano mmanyi nga Mukama ayamba omusiige we. Amuddamu ng'asinziira mu ggulu lye ettukuvu. Olw'obuyinza bwe, amusobozesa okuwangula. Abamu beesiga magaali, abalala beesiga mbalaasi. Naye ffe twesiga maanyi ga Mukama Katonda waffe. Abo balineguka ne bagwa, naye ffe tuligolokoka ne tuyimirira. Ayi Mukama, wa kabaka okuwangula. Otwanukule bwe tukoowoola. Kabaka asanyuka, ayi Mukama, kubanga omuwadde amaanyi. Asanyuka nnyo, kubanga omuyambye. Omuwadde bye yeegomba, tomummye ye yennyini ky'akusabye. Weewaawo ozze gy'ali n'emikisa emingi ddala, n'omutikkira ku mutwe engule ya zaabu amatendo. Yakusaba obulamu, n'omuwa okuwangaala emirembe n'emirembe. Ekitiibwa kye kinene olw'obuyinza bwo, wamuwa obukulu n'ettendo. Emikisa gyo giri naye emirembe gyonna, asanyuka kubanga ggwe wooli. Kabaka yeesiga Mukama, era olw'ekisa ky'oyo Atenkanika, ye taasagaasaganenga. Aliwamba abalabe be bonna, alikwata abamukyawa. Bw'alirabika, balikoleera ne baaka ng'omuliro gw'ekikoomi. Mukama alibasaanyaawo, n'omuliro gulibasenkenya. Abaana n'abazzukulu baabwe kabaka alibatta, n'abamalirawo ddala ku nsi. Ne bwe baliteesa okumukolako akabi, ne bwe balisala enkwe, tebalisobola, kubanga alibaleegamu obusaale mu maaso, ne bakyuka ne badduka. Ayi Mukama, ogulumizibwenga olw'amaanyi go, tunaayimbanga ne tutendereza obuyinza bwo. Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki onneesuula n'otonnyamba, era n'otowulira kukaaba kwange? Ayi Katonda wange, nkoowoola emisana, n'otoddamu! N'ekiro nkoowoola, ne siwummula! Naye ggwe mutuukirivu atuula ku ntebe yo, abantu ba Yisirayeli ne bakutendereza. Ye ggwe bajjajjaffe gwe beesiganga, baakwesiganga n'obawonya. Baakukoowoolanga ne bawona akabi, tebaakwesigiranga bwereere. Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu. Abantu bonna banvuma era bannyooma. Bonna abandaba bansekerera ne banduulira. Bandagamu emimwa, ne banyeenya n'emitwe nga bagamba nti: “Yeesiga Mukama, kale Mukama amuwonye. Oba nga Mukama amwagala, kale amuyambe.” Naye ggwe wanzigya mu nda ya mmange, ggwe wankuuma nga nkyayonka. Neesiga ggwe okuviira ddala lwe nazaalibwa, era okuva olwo ggwe Katonda wange. Tombeera wala, kubanga akabi kali kumpi, era tewali annyamba. Abalabe bangi banneetoolodde, bantaayizizza nga bali ng'ente endalu eza sseddume ez'omu nsi Basani. Banjasamiza akamwa kaabwe ng'empologoma etaamye, ewuluguma. Njiiseyiise ng'amazzi, n'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'envumbo: gusaanuukidde mu kifuba kyange. Amaanyi gange gakalidde ng'oluggyo, n'olulimi lwange lukwatidde ku kibuno kyange. Ondese nfiire mu nfuufu. Ekibinja ky'abakola ebibi kinneetoolodde, bali ng'embwa ezintaayizizza. Ebibatu n'ebigere byange babiwummudde. Amagumba gange gonna galabika, bantunuulira ne banvulumulira amaaso. Baagabana ebyambalo byange, olugoye lwange ne balukubira akalulu. Naye ggwe ayi Mukama, leka kumbeera wala. Ayi ggwe annyamba, yanguwa okunziruukirira. Mponya ekitala, obulamu bwange buwonye embwa. Mponya empologoma, nze ateeyamba mponya embogo. Ndikumanyisa mu baganda bange, ndikutenderereza mu kkuŋŋaaniro wakati. Mmwe abassaamu Mukama ekitiibwa mumutendereze, bazzukulu ba Yakobo mwenna, mugulumize Mukama, abantu ba Yisirayeli mwenna, mumusseemu ekitiibwa; kubanga teyanyooma munaku, oba obutamufaako mu buyinike bwe, wadde okumukuba amabega. Ggwe ompeesa ettendo nga ndi mu kibiina ekinene. Bye neeyama nja kubituukiriza mu maaso g'abakussaamu ekitiibwa. Abaavu balirya ne bakkuta, abanoonya Mukama balimutendereza, babeerenga balamu bulijjo. Amawanga gonna galijjukira Mukama, abantu ab'omu nsi zonna balimusinza, kubanga Mukama ye kabaka, ye afuga amawanga. Bonna abeekulumbaza balimuvuunamira, n'abo bonna ab'okudda mu nfuufu balimufukaamirira. Abaana abalizaalibwa balimuweereza, abantu balitegeeza ab'omulembe ogujja ebifa ku Mukama. Abantu abatannazaalibwa balibuulirwa nti: “Mukama yalokola abantu be.” Mukama ye annunda, siriiko kye njula. Andeka ne ngalamira mu malundiro ag'omuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu. Anzizaamu amaanyi, annuŋŋamya mu makubo amatuufu nga bwe yasuubiza. Ne bwe ntambulira mu kiwonvu ekikutte ekizikiza, sirina kabi ke ntya, kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n'omuggo gwo bye binkuuma. Onteekerateekera olujjuliro ng'abalabe bange batunula. Onsiize omuzigo ku mutwe, ekikopo kyange kibooze. Ddala obulungi bwo n'ekisa kyo biriba nange obulamu bwange bwonna. Nnaabeeranga mu Nnyumba ya Mukama bulijjo. Ensi n'ebigirimu byonna bya Mukama, ensi yonna yiye era ne bonna abagiriko. Ye yagiteeka ku nnyanja, ye yaginyweza ku mazzi amangi. Ani alyambuka ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu? Oyo akola ebirungi, era ow'omutima omulongoofu, ateemalira ku bitaliimu nsa, era atalayira bya bulimba. Mukama alimuwa omukisa, Katonda alimufuula mutuukirivu n'amulokola. Abali ng'oyo be bakunoonya, be baagala okukulaba, ayi Katonda wa Yakobo. Mugguleewo emiryango n'enzigi ez'edda, ziggulirwewo ddala, Kabaka oweekitiibwa ayingire. Kabaka oweekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow'amaanyi n'obuyinza, Mukama omuzira mu lutalo. Mugguleewo emiryango, n'enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala, Kabaka oweekitiibwa ayingire. Kabaka oweekitiibwa ye ani? Mukama Nnannyinimagye ye Kabaka oweekitiibwa. Ayi Mukama, nnyimusiza gy'oli omwoyo gwange. Ayi Katonda wange, ggwe neesiga, tondeka kuswala. Toleka balabe bange kunneewaanirako, kubanga abakwesiga tobaleka kuswala, wabula oleka abo abeetawaanyiza obwereere nga basala enkwe. Ndaga amakubo go, ayi Mukama, ndagirira empenda zo. Njigiriza, onnuŋŋamye mu mazima go, kubanga ggwe Katonda wange andokola, ggwe neesiga bulijjo. Ayi Mukama, jjukira ekisa kyo n'okwagala kwo, bye walaga okuva edda n'edda lyonna. Tojjukira bibi wadde ensobi, bye nakola mu buvubuka bwange. Naye mu kisa kyo jjukira nze, ayi ggwe Mukama omulungi. Mukama mulungi era wa mazima, aboonoonyi kyava abalaga ekkubo. Abeetoowaze abaluŋŋamya mu kusala emisango, era abayigiriza ky'ayagala bakole. Engeri Mukama gy'akwatamu abo abatuukiriza endagaano ye ne bye yalagira, ya kisa era ya bwesigwa. Kuuma kye wasuubiza, ayi Mukama, onsonyiwe ebibi byange kubanga binene. Omuntu assaamu Mukama ekitiibwa, Mukama gw'anaalaganga ekkubo ly'agwanira okukwata. Ye yennyini n'ab'ezzadde lye, balifuna ebirungi. Ensi eriba yaabwe. Mukama aba mukwano gw'abo abamussaamu ekitiibwa, era anaakakasanga endagaano gye yakola nabo. Amaaso gange gasimbye ku Mukama ennaku zonna, kubanga ye aggya ebigere byange mu mutego. Ayi Mukama, kyukira gye ndi, onsaasire, kubanga nsigadde bwomu era mbonaabona. Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange, nzigya mu bibonoobono byange. Lowooza ku bunaku bwange, ne ku kutegana kwange onsonyiwe ebibi byange byonna. Laba abalabe bange bwe benkana obungi, laba nga bwe bankyawa ennyo. Kuuma obulamu bwange era omponye, toŋŋanya kuswala, kubanga ggwe nneesiga. Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, kubanga nneesiga ggwe. Ayi Katonda, nunula Yisirayeli mu bibonoobono bye byonna. Ayi Mukama, nsalira omusango nsinge, kubanga sirina kibi kye nakola, era nkwesiga awatali kubuusabuusa. Nkebera, ayi Mukama, ongeze, olabe omutima gwange n'amagezi gange, kubanga ekisa kyo kye kinnuŋŋamya, era obwesigwa bwo kwe ntambulira. Situula na bantu balimba, era seetaba na bakuusa. Nkyawa ekibiina ky'abakola ebibi, era sikkiriza kutuula na babi. Ayi Mukama, nnaaba mu ngalo okulaga bwe sirina musango, ne neetooloola alutaari yo, nga nnyimba oluyimba olw'okwebaza era nga njogera ku byamagero by'okola. Ayi Mukama, njagala ennyumba yo, n'ekifo omubeera ekitiibwa kyo. Tonsaanyaawo na boonoonyi, obulamu bwange tobuzikiririza wamu na batemu. Bo bakozi ba bibi era bulijjo balya enguzi. Naye nze nkola kye mmanyi nti kituufu. Nkwatirwa ekisa onnunule. Nnyimiridde watereevu, neebazanga Mukama mu kibiina ky'abantu. Mukama kye kitangaala kyange era ye Mulokozi wange, ani gwe nnaatya? Mukama ye akuuma obulamu bwange, ani anankankanya? Abantu ababi bwe bannumba nga baagala okunzita, beesittala ne bagwa. Eggye eddamba ne bwe lisiisira okunnwanyisa, omutima gwange tegugenda kutya. Ne bwe nnumbibwa mu lutalo, nsigala ndi mugumu. Kye nsabye Mukama, era kye nnoonya, kiri kimu kyokka: obulamu bwange bwonna, ntunuulirenga obulungi bwe, era mmwebuuzengako mu Ssinzizo lye; kubanga mu biseera eby'obuyinike alinkweka omumwe, alinteeka waggulu ku lwazi olwekusifu. Olwo ndiwangula abalabe bange abanneetoolodde. Ndiwaayo ebitambiro mu Ssinzizo lye, nga njaguza. Ndiyimba ne ntendereza Mukama. Ayi Mukama, wulira okukaaba kwange, nkwatirwa ekisa, onziremu. Bwe wagamba nti: “Munnoonye”, naddamu nti: “Ayi Mukama, Gwe gwe nnoonya!” Tonneekweka. Nze omuweereza wo tongoba ng'osunguwadde. Ggwe muyambi wange, tonsuula, era tonjabulira, ayi Katonda Omulokozi wange! Kitange ne mmange ne bwe banjabulira, Mukama anandabiriranga. Ayi Mukama, njigiriza ekkubo ly'oyagala nkwate, nkulembera mu kakubo akatereevu, kubanga nnina abalabe bangi. Tompaayo mu balabe bange, abannumba nga bampaayiriza, era nga bajjudde obukambwe. Mmanyi nti nja kulama, ndabe obulungi bwa Mukama mu bulamu buno. Weesige Mukama, ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Ddala weesige Mukama. Ayi Mukama, Ggwe ontaasa, nkukoowoola, mpulira! Bw'ononsiriikirira, nja kuba ng'abo abakka emagombe! Ayi Mukama wange, wulira okukaaba kwange nga nkusaba onnyambe, nga nnyimusa emikono gyange eri ekifo kyo ekitukuvu ennyo. Tontwalira mu boonoonyi, mu abo abakola ebibi, aboogera ne bannaabwe eby'emirembe, sso ng'obukyayi bwe buli mu mitima gyabwe. Ggwe babonereze olw'ebikolwa byabwe, ng'ogerera ku bibi bye bakola. Bawe empeera esaanira emirimu gyabwe. Mukama by'akola tebabifaako, alibamenyerawo ddala n'atabazzaawo. Mukama atenderezebwe kubanga awulidde bye mmusaba. Mukama ye ampa amaanyi, era ye antaasa, mmwesiga. Annyamba ne nsanyuka, nnyimba okumutendereza. Mukama ye awa abantu be amaanyi, ye ataasa n'awonya omusiige we. Lokola abantu bo be weefunira, era obawe omukisa. Ggwe oba obalabirira, obawanirirenga emirembe gyonna. Mmwe ab'omu ggulu, mutendereze Mukama, waakitiibwa era muzira, mumutendereze. Mutendereze erinnya lye eryekitiibwa, mumusinze nga musaanidde mu kifo kye ekitukuvu. Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi, Katonda oweekitiibwa abwatuka, eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi. Eddoboozi lya Mukama lya maanyi, eddoboozi lya Mukama lyakitiibwa nnyo! Eddoboozi lya Mukama limenya emivule, Mukama amenya emivule gy'omu Lebanooni. Ensozi z'omu Lebanooni azizinyisa ng'ennyana, n'Olusozi Siriyooni ne luzina ng'embogo ento. Eddoboozi lya Mukama livaamu ennimi ez'omuliro. Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu, Mukama akankanya eddungu ly'e Kadesi. Eddoboozi lya Mukama liyuuguumya emivule, likunkumulira ddala amakoola g'amabira. Mukama ye afuga omujjuzo gw'amazzi, afuga nga Kabaka emirembe gyonna. Mukama awa abantu be amaanyi, abawa omukisa n'emirembe. Nkugulumiza ayi Mukama, kubanga omponyezza, n'otoleka balabe bange kunneeyagalirako. Ayi Mukama, Katonda wange, nakukoowoola onnyambe, n'omponya. Ayi Mukama, wanzigya mu ntaana, wamponya okukka emagombe, n'onzizaamu obulamu. Mmwe abantu ba Katonda abeesigwa muyimbe nga mumutendereza, mumwebaze Omutuukirivu. Obusungu bwe buba bwa kaseera buseera, ekisa kye kya bulamu bwaffe bwonna. Amaziga agayiika mu kiro, gaddirirwa ssanyu mu makya. Bwe nali obulungi ne ŋŋamba nti: “Sirinyeenyezebwa n'akatono.” Mu kisa kyo, ayi Mukama, wali onnywezezza ng'olusozi. Naye bwe wanneekisa, ne neeraliikirira. Ayi Mukama, nkukoowoola, nkwegayirira onnyambe. Kale bwe nnaafa, onoogasibwa ki nga nzikiridde emagombe? Enfuufu eneekutenderezanga? Era eneekulangiriranga nga bw'oli omwesigwa? Wulira, ayi Mukama onkwatirwe ekisa, ayi Mukama, onnyambe. Okunakuwala kwange okufudde kubiibya. Onzigyeko obuyinike n'onzijuza essanyu. N'olwekyo siisirikenga, nnaayimbanga okukutendereza. Ayi Mukama Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna. Ayi Mukama, nzirukira gy'oli, tondeka kuswala n'akatono. Ggwe omutuukirivu, ndokola. Ntegera okutu, yanguwa okumponya. Beera ekiddukiro kyange, onkuume. Nzibira, ondokole. Ddala ggwe kiddukiro kyange, ggwe onzibira. Nkuuma onkulembere, nga bwe wasuubiza. Nzigya mu kitimba kye banteze, kubanga nzirukira gy'oli. Nkukwasizza omwoyo gwange, kubanga ondokodde, ayi Mukama. Ggwe Katonda omwesigwa. Okyawa abasinza ebitaliimu, naye nze nneesiga Mukama. Nnaasanyukanga ne njaguza olw'ekisa kyo, kubanga walaba okubonaabona kwange, n'omanya obuyinike bwange. Tewandeka kuwambibwa mulabe, wampa eddembe okutambula yonna gye njagala. Ayi Mukama, nkwatirwa ekisa, kubanga zinsanze! Amaaso gange gakooye olw'amaziga, nzigwereddemu ddala amaanyi, kubanga obulamu bwange mbumaze mu buyinike. Emyaka gyange ngiyiseemu mu kusinda. Amaanyi gampweddemu olw'obuyinike bwange, n'amagumba gange gennyini gakozze! Abalabe bange bonna bangaya, baliraanwa bange banneenyinyala. Mikwano gyange bantya, bwe bandaba mu kkubo, banziruka. Nneerabiddwa ng'omufu, nfuuse ng'ekibya ekyatise. Mpulira bangi nga beegeya, entiisa enneetoolodde wonna. Bateeseza wamu ku nze, nga basala amagezi okunzita. Naye nze neesiga ggwe, ayi Mukama, ŋŋamba nti: “Ggwe Katonda wange.” Obulamu bwange buli mu mikono gyo, ggwe nzigya mu mikono gy'abalabe bange, n'egy'abo abanjigganya. Ntunuuliza busaasizi nze omuweereza wo, ondokole olw'ekisa kyo. Ayi Mukama, tondeka kuswala, kubanga nkoowoola ggwe. Ababi be baba baswala, bawereekerezebwe mu kasirise emagombe. Buniza emimwa gy'abalimba abo, aboogera obubi ku batuukirivu bo. Ebirungi byo nga bingi bye waterekera abakussaamu ekitiibwa! Abantu bonna balaba by'okolera abakwesiga. Obakweka gy'oli, n'obawonya enkwe z'abantu. Obakuumira aweesiifu, ne bawona okuvumibwa. Mukama atenderezebwe, kubanga andaze ekisa kye ekingi, mu kibuga ekiriko ekigo. Mu kutya okungi nagamba nti: “Ngobeddwa mu maaso go!” Naye wawulira okwegayirira kwange, nga nkusaba onnyambe. Mwagale Mukama mmwe mwenna abantu be abeesigwa. Mukama akuuma abamwesiga, naye abeekulumbaza ababonereza nga bwe basaanidde. Mwenna abalina essuubi mu Mukama, mube ba maanyi, mugume omwoyo. Wa mukisa oyo asonyiyibwa ekyonoono kye, n'aggyibwako ekibi kye. Omuntu oyo wa mukisa, Mukama gw'abala nti talina kibi, era ataliimu bukuusa. Bwe nali nga nkyasirikidde ekibi kyange, naggweeramu ddala amaanyi olw'okukaaba olunaku lwonna, kubanga wambonerezanga emisana n'ekiro, amaanyi ne ganzigweramu ddala ng'amazzi bwe gakala mu kyeya. Olwo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sikisa byonoono byange. Nagamba nti: “Ka njatulire Mukama ebyonoono byange.” Naawe n'onsonyiwa omusango gw'ekibi kyange. Buli muweereza wo kyanaavanga akwegayirira ng'ali mu biseera ebizibu. Ennaku ne bw'eryalaala ng'amazzi, terimutuukako. Ggwe kiddukiro kyange, olimponya obuyinike n'onzijuza essanyu olw'okulokolebwa. Mukama agamba nti: “Ndikuyigiriza ne nkulaga ekkubo ly'onookwatanga. Nnaakubuuliriranga, ne nkulabirira. Temuba ng'embalaasi wadde ennyumbu ezitalina magezi, z'oteekwa okufuga nga zisibiddwa ekyuma mu kamwa n'enkoba mu kifuba, ziryoke zisembere w'oli.” Ababi ba kubonaabona nnyo; naye abeesiga Mukama, abakuuma n'ekisa kye. Mmwe abantu ba Katonda abeesigwa, musanyuke mujaguze olw'ebyo Mukama by'akola. Nammwe mwenna ab'omutima omulongoofu muleekaane olw'essanyu. Abatuukirivu mwenna musanyuke olw'ebyo Mukama by'akola, musanyuke mumutendereze mmwe ab'omutima omulongoofu. Mwebaze Mukama nga mumuyimbira ku nnanga, mumukubire entongooli ey'enkoba ekkumi. Mugikubise magezi n'obukugu, mumuyimbire oluyimba oluggya, nga muleekaana olw'essanyu. Mukama by'ayogera bya mazima, era by'akola byesigika. Ayagala obutuufu n'amazima, ensi yajjula okwagala kwe. Katonda yalagira, eggulu ne litondebwa, ebiririmu byonna byakolebwa na kigambo kye. Akuŋŋaanyiza amazzi mu nnyanja, ne gaba ng'agali mu nsuwa. Amazzi ag'ebuziba agateeka mu materekero. Ensi yonna etye Mukama, ab'oku nsi bonna bamusseemu ekitiibwa, kubanga yayogera ensi n'ebaawo, yalagira n'enywera. Mukama aggyawo ebyo amawanga bye gateesa, abantu abalemesa bye bamaliridde okukola. Ye by'ateesa bisigalawo ennaku zonna, ebirowoozo bye bibeerera emirembe gyonna. Eggwanga eririna Mukama Katonda nga gwe lisinza lya mukisa; abantu be yalonda okuba ababe, ba mukisa. Mukama asinziira mu ggulu n'alengera, n'alaba abantu bonna, asinziira ku ntebe ye ey'obwakabaka n'alaba abali ku nsi bonna. Ye yakola emitima gya bonna, era yekkaanya byonna bye bakola. Kabaka tawangula lwa ggye ddene, omutabaazi tawona lwa maanyi ge mangi. Embalaasi tegasa okuwangula. Ne bw'eba ey'amaanyi ennyo, si ye ewonya omuntu. Mukama atunuulira abamussaamu ekitiibwa. Atunuulira abeesiga ekisa kye, okubawonya okufa n'okubakuuma nga balamu mu biseera eby'enjala. Tulindirira Mukama, ye atubeera era ye atutaasa. Tusanyukira mu ye, kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu. Ayi Mukama nga bwe tukwesiga, tukwatirwe ekisa. Mukama nnaamwebazanga bulijjo, nnaamutenderezanga obutamala. Nneenyumirizanga mu Mukama, ababonaabona bawulire basanyuke. Mujje tugulumize Mukama, ffenna tumutendereze. Neegayirira Mukama, n'anziriramu, n'amponya byonna ebyali bintiisa. Bonna abatunuulira gy'ali basanyuka, era tebaliswala n'akatono. Omunaku amuwulira, n'amuggya mu buzibu bwe bwonna. Malayika wa Mukama yeebungulula abawulira Mukama, n'abataasa. Mulegeeko mulabe nga Mukama bw'ali omulungi! Wa mukisa oyo amwesiga. Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abaweereza be, kubanga abamussaamu ekitiibwa tebajula kantu. Obwana bw'empologoma oluusi bubulwa emmere ne bulumwa enjala. Naye abanoonya Mukama, tebajula kirungi na kimu. Mujje baana bange, muntegere amatu, mbayigirize okussaamu Mukama ekitiibwa. Oyagala okunyumirwa obulamu, okuwangaala n'okufuna ebirungi? Ziyiza olulimi lwo okwogera ekibi, n'emimwa gyo okwogera eby'obulimba. Va mu bibi, okolenga ebirungi, noonya emirembe, gy'oba ogobereranga. Mukama alabirira abatuukirivu, era awulira okukaaba kwabwe. Kyokka aboonoonyi, abatunuuliza bukambwe; alaba nti tebajjukirwenga mu nsi. Abantu ba Mukama abeesigwa bamukoowoola n'abawulira, n'abaggya mu bizibu byabwe byonna. Mukama abeera kumpi n'abeenenyezza mu mutima, alokola ababoneredde mu mwoyo. Omuntu omulungi abonaabona mu bingi, naye Mukama abimuwonya byonna. Akuuma amagumba ge gonna, tekulimenyekako na limu. Ekibi kiritta omubi, abakyawa obutuukirivu balibonerezebwa. Mukama anunula abaweereza be. Tewali n'omu ku bamwesiga alisingibwa musango. Ayi Mukama, wakanya abampakanya, olwane n'abannwanyisa. Kwata engabo ennene n'entono, ositukiremu onnyambe. Abanjigganya bagalulire effumu lyo, oŋŋambe nti: “Ndi Mulokozi wo.” Abaagala okunzita bakwatibwe ensonyi baswale, abateesa okunkolako akabi bazzibweyo emabega nga basobeddwa. Malayika wa Mukama abagobe, babe ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga. Ekkubo lyabwe Malayika wa Mukama mw'abagobera, libeemu ekizikiza n'obuseerezi, kubanga bantega ekitimba kyabwe awatali nsonga, baasima obunnya mbugwemu. Naye okuzikirira kubatuukeko nga tebamanyi, n'ekitimba kye bantega kikwase bo bennyini bazikirire. Olwo ndisanyukira ebyo Mukama by'akola, ndijaguza kubanga andokola. N'amaanyi gange gonna ndigamba Mukama nti: “Ayi Mukama, teri akwenkana ggwe! Omunafu omuwonya abamusinza ennyo amaanyi, omwavu omuwonya abamunyagako ebibye.” Abantu ababi basituka ne bannumiriza ebigambo bye simanyinako. Mu birungi bansasulamu bibi, ne bammalamu amaanyi. Kale bo bwe baalwala, nayambala ekikutiya, ne nneebonereza nga nsiiba, ne nsaba Katonda nga nkutamizza omutwe, nga bwe nandisabidde mukwano gwange, oba muganda wange. Nagendanga nneewese olw'ennaku, ng'alirira nnyina. Naye nze bwe nagwa ku kizibu ne basanyuka, ne bakuŋŋaana okunsekerera. Ne be simanyi ne bankuba awatali kuweera. Ne banduulira ng'abatatya Katonda, ne baluma n'obugigi nga bansunguwalidde. Ayi Mukama, olituusa wa okutunuulira obutunuulizi? Mponya abaagala okunzita. Obulamu bwange buwonye empologoma zino. Olwo ndikwebaliza mu lukuŋŋaana lw'abantu bo, ndikutendereza mu maaso ga bonna. Abalabe bange abampaayiriza, tobakkiriza kunneewanikako. Era abankyawa awatali nsonga, tobaganya kunyigiragana ku liiso ku lwange, nga basanyuka. Teboogera bya mirembe, naye bateesa bya bulimba ku bateredde emirembe mu nsi. Bannumirizza nga baleekaana nti: “Twalaba kye wakola!” Bino obirabye, ayi Mukama, tosirika busirisi. Ayi Mukama, tombeera wala. Situka, ayi Mukama ontaase. Golokoka, ayi Katonda wange, osale omusango gwange! Ayi Mukama, sala omusango gwange, nga bw'oli omwenkanya, era toleka balabe bange kunneewaanirako. Baleme kugamba mu mitima gyabwe nti: “Otyo, tufunye kye twagala: oyo tumumazeewo!” Bonna abasanyukira obuyinike bwange bakwatibwe ensonyi baswale. Abanneekulumbalizaako, bajjule ensonyi n'okunyoomebwa. Abo abaagala nsinge omusango baleekaane olw'essanyu, bajaguze, era bagambe bulijjo nti: “Mukama agulumizibwe, asanyuka okulaba omuweereza we ng'awangudde.” Olwo ndirangirira obutuukirivu bwo, ne nkutendereza olunaku lwonna. Ekibi kyogerera mu mutima gw'omwonoonyi. Tassaamu Katonda kitiibwa n'akatono, kubanga yeegulumiza, n'alowooza nti ekibi kye tekirirabibwa ne kikyayibwa. Byonna by'ayogera bibi era bya bulimba, aleseeyo okukola eby'amagezi era ebirungi. Ne bw'aba mu kitanda kye, ateesa kukola bibi; anywerera mu mpisa ze embi, n'atabaako kibi ky'akyawa. Ayi Mukama, ekisa kyo kituuka ne ku ggulu, obwesigwa bwo butuuka ne mu bire. Obutuufu bwo buli ng'ensozi engulumivu, ennamula yo ekka ng'ennyanja ey'eddubi. Ayi Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo. Ayi Mukama, ekisa kyo kya muwendo nnyo, era abantu baddukira gy'oli. Bakkusibwa emmere ennyingi gy'obawa mu nnyumba yo. Obaleka ne banywa amazzi ku mugga gwo ogwesiimisa, kubanga mu ggwe mwe muli ensibuko y'obulamu. Mu kitangaala kyo mwe tulabira ekitangaala. Kale yongera okulaga ekisa kyo eri abakumanyi, n'obulungi bwo, eri abalina emitima emirongoofu. Toganya beekulumbaza kunnumba, wadde ababi okungoba we ndi. Laba aboonoonyi bwe bagudde eri, bameggeddwa ne batasobola kuyimuka. Toggweebwangako mirembe olw'ababi, wadde okukwatibwa ensaalwa olw'abo abakola ebibi, kubanga balifa mangu ng'omuddo ogukala, balibulawo ng'ebimera ebiwotoka ne bifa. Weesigenga Mukama, okolenga ebirungi, lw'olibeera emirembe ku nsi. Essanyu linoonyenga mu Mukama, alikuwa ebyo omutima gwo bye gwegomba. Weeteekenga mu mikono gya Mukama; mwesigenga, anaakuyambanga. Anaalaganga bw'oli omutuufu, n'oyaka ng'omusana ogw'ettuntu. Sirika ogumiikirizenga mu maaso ga Mukama, olindirirenga ye ky'anaakola. Teweeraliikiriranga abo abatuukiriza ebibi bye bateesa okukola, buli kye bakola ne kibagendera bulungi. Lekanga obusungu n'ekiruyi, era teweeraliikiriranga. Ebyo tebivaamu kalungi. Ababi balizikirizibwa. Naye abeesiga Mukama, ensi eriba yaabwe. Mu kaseera katono, ababi baliba tebakyaliwo. Ne bw'olibanoonya we babadde, tolibalaba. Ensi eriba ya beetoowaze, ne basanyuka awatali kibatawaanya. Omubi yeewerera omulungi, era amutunuuliza bukambwe. Naye Mukama asekerera ababi, kubanga amanyi nti banaatera okuzikirizibwa. Ababi basowola ebitala, ne baleega n'emitego gy'obusaale bwabwe, okutta abaavu n'abateeyamba, n'okumalawo ab'empisa ennungi. Naye ebitala byabwe ebyo biritta bo bennyini. N'emitego gyabwe girimenyeka. Ebitono eby'omulungi, bikira obugagga bw'ababi abangi, kubanga ababi, Mukama alibamala amaanyi, n'akuuma abalungi. Mukama alabirira abatalina musango, era ensi eriba yaabwe ennaku zonna. Mu biseera eby'akabi tebalirumwa. Ne mu biseera eby'enjala, banaalyanga ne bakkuta. Naye ababi balifa, abalabe ba Mukama baliggwaawo ng'ebimuli eby'omu ttale. Baliggwaawo ng'omukka. Omubi yeewola n'atasasula. Naye omulungi akola eby'ekisa, agaba ebirabo. Abo Mukama b'awa omukisa ensi eriba yaabwe. Kyokka abo b'akolimira balizikirira. Mukama aluŋŋamya omuntu mu kkubo ettuufu, era akuuma abo abamusanyusa. Ne bwe bagwa tebalemera wansi, kubanga Mukama abayamba okuyimuka. Kaakano nkuze era nkaddiye, naye sirabanga muntu mulungi Mukama gw'ayabulira, wadde abaana be nga basabiriza ebyokulya. Bulijjo omulungi akola eby'ekisa, awola abalala, n'abaana be bamwesiimisa. Va mu bibi okolenga ebirungi, lw'olibeera n'obutaka obw'olubeerera. Mukama ayagala ebituufu, era tayabulira bamwesiga. Abakuuma emirembe gyonna. Naye ezzadde ly'omubi, lirizikirizibwa. Abakola Katonda by'ayagala, ensi eriba yaabwe. Banaagibeerangamu emirembe gyonna. Omuntu omulungi ayogera eby'amagezi, era bibaamu ensonga. Akuuma amateeka ga Katonda we mu mutima gwe, era tagaviirako ddala. Omubi atunuulira omulungi, ng'ayagala okumutta; naye Mukama talireka mulungi mu buyinza bwa mubi, wadde okumuleka okusalirwa omusango okumusinga. Weesigenga Mukama, okwatenga ebiragiro bye, alikugulumiza, ensi ebe yiyo. Era oliraba ababi bwe bazikirizibwa. Nalaba omubi eyeekulumbaza era anyooma buli omu, ng'agulumidde ng'omuti omuwanvu ogumeze mu ttaka eggimu. Naye bwe nakomawo, yali takyaliwo. Namunoonya, naye saamulaba. Wekkaanye omuntu atalina musango, omanye ow'omutima omulongoofu. Omuntu ow'emirembe afuna abazzukulu, naye aboonoonyi bazikirizibwa bonna, ezzadde lyabwe ne liggweerawo ddala. Mukama alokola abantu abalungi, era abakuuma mu biseera eby'okubonaabona. Abayamba n'abataasa, n'abawonya ababi, kubanga beeyuna gy'ali. Ayi Mukama, tonnenya mu busungu bwo, tombonereza ng'okambuwadde. Onfumise n'obusaale bwo, onkubye ne ngwa wansi. Mpulira obulumi olw'obusungu bwo, omubiri gwange gwonna gulwadde olw'ebibi byange. Nzitoowereddwa ebibi byange, biri ng'omugugu ogutasitulikika. Olw'obusirusiru bwange, ebiwundu byange bivunze ne biwunya. Mpeteddwa ne ngalamizibwa wansi, nkaaba olunaku lwonna. Nzijudde ebbugumu ery'omusujja, sikyawulira bulamu mu mubiri gwange Nnyongobedde, mmenyesemenyese, nsinda olw'obuyinike mu mutima. Ayi Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi, n'okusinda kwange okuwulira. Omutima gwange gumpakuka nnyo, amaanyi gampweddemu. Amaaso gange tegakyalaba. Olw'ebiwundu byange, mikwano gyange ne baliraanwa bange tebakyansemberera, ne baganda bange banneesuula. Abaagala okunzita bantega emitego, abanjagaliza obubi banjogerera eby'obukambwe. Buli kiseera bansalira enkwe. Naye nze ndi nga kiggala, sikyawulira; era ndi nga kasiru, sikyayogera. Ddala ndi ng'atawulira, era atasobola kwanukula. Ayi Mukama, neesiga ggwe Mukama Katonda wange, ggwe ononnyanukula. Nkusaba nti toleka balabe bange kusanyuka olw'obuyinike bwange. Tobakkiriza kunneewaanirako nga ngudde. Ndi kumpi okugwa, ndi mu bulumi obutasalako. Njatula ebibi byange, nneenenya olw'okwonoona. Abalabe bange balamu, ba maanyi. N'abankyayira obwemage bangi. Mbakolera ebirungi, naye bo bankolera bibi. Bampalana kubanga nfuba okukola ebirungi. Ayi Mukama, tonjabulira. Katonda wange, tombeera wala. Yanguwa okunnyamba, ayi Mukama, omulokozi wange. Nagamba nti: “Nneekuumanga mu mpisa zange, nnemenga okusobya mu bye njogera. Awali ababi nnaasirikanga.” Nasiruwala ne nsirika n'ebirungi saabyogera; naye neeyongera kunakuwala, ne neeraliikirira. Bwe nalowoozanga, nga nnyongera kweraliikirira. Kyennava ŋŋamba nti: “Mukama, ntegeeza lwe ndifa, n'ebbanga lye ndiwangaala. Mmanyisa ng'obulamu bwange bwe buyita amangu.” Obulamu bwange wabugerera ku luta. Akaseera ke ndiwangaala, tekalina bwe kenkana mu maaso go. Ddala buli muntu mukka bukka, ayita buyisi ng'ekisiikirize! Byonna by'akola bimufa bwereere. Obugagga bw'akuŋŋaanya, tamanya aliba nnyinibwo. Mukama, era kaakano nsuubire ki? Essuubi lye nnina liri mu ggwe. Nzigyaako ebibi byange byonna, tondeka kusekererwa basirusiru. Siiyogere, ka mbunire nsirike, kubanga ggwe wayagala mboneebone bwe nti. Toyongera kumbonereza, n'empi z'onkubye zimala. Bw'obonereza omuntu ng'omunenya olw'ebibi bye, ozikiriza by'ayagala, ne biba ng'ebiriiriddwa ennyenje. Ddala buli muntu mukka bukka. Wulira kye nsaba, ayi Mukama, owulirize bwe nkaaba. Olw'amaziga ge njiwa, nnyamba! Ndi mugenyi wo, omuyise era omutambuze, ŋŋenda nga bajjajjange bonna. Ndeka nsanyukemu akatono, nga sinnagenda butadda ku nsi kuno. Nagumiikiriza ne nninda Mukama okunnyamba, yategereza n'awulira bwe nkaaba. Yanzigya mu bunnya obuntiisa, ne mu bitosi mwe ntubira, n'anteeka ku lwazi kwe mponera, n'annyweza ebigere we nninnye. Yanjigiriza oluyimba oluggya, olutendereza Katonda waffe. Bangi baliraba kino ne batya, baliyiga ne beesiga Mukama. Wa mukisa eyeesiga Mukama, era ateesigula bakola bya malala, wadde abasinza ebitajja nsa. Ayi Mukama, Katonda wange, ebyewuunyisa by'otukolera bingi, tewali alikwenkana. Ne by'otutegekera bingi. Bwe ngezaako okubimenya wadde okubyogerako, tebibalika obungi! Ebitambiro n'ebiweebwayo si by'oyagala. Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi, tobyetaaga. Wabula wampa amatu mpulire. Kyennava ŋŋamba nti: “Nzuuno, nzize. Ebinjogerako biwandiikiddwa mu muzingo gw'ekitabo. Ayi Katonda wange, nsanyuka okukola by'oyagala, era nkuuma amateeka go mu mutima gwange.” Ng'abantu bo bakuŋŋaanye nayatula nga bw'otulokodde. Ayi Mukama, omanyi nga siirekengayo kukyogera ekyo. Kye namanya nti otulokodde nakyogera, saasirika abantu bo we bakuŋŋaanidde. Obwesigwa bwo n'obuyambi bwo, ekisa kyo n'amazima go, ssaabikisa. Tolekaayo kunsaasira, ayi Mukama. Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga bulijjo, kubanga neetooloddwa ebizibu nkumu ebitabalika. Mbikkiddwa ebibi byange, tebikyaŋŋanya kulaba. Okubibala obungi, bikira enviiri ez'oku mutwe gwange. Era mpweddemu amaanyi. Ayi Mukama, kkiriza okumponya. Ayi Mukama, yanguwa okunnyamba. Bonna abaagala okunzita, bakwatibwe ensonyi baswale. Abasanyukira ennaku yange, bazzibwe emabega nga baswadde. Abansekerera, batye era baswale. Bonna abeeyuna gy'oli basanyuke bajaguze. Abakwebaza olw'okubalokola, bagambenga bulijjo nti: “Mukama agulumizibwe.” Nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, naye Mukama andowoozaako. Ggwe onnyamba era ggwe omponya. Ayi Katonda wange, tolwa! Wa mukisa alumirwa abaavu; olutuukibwako ebizibu, Mukama amuyamba. Mukama amukuuma n'amuwa obulamu, amuwa omukisa mu nsi, tamuwaayo kufugibwa balabe be. Ng'ali ku ndiri alwadde, Mukama amuyamba, n'amuwonya obulumi bwe bwonna. Nze nagamba nti: “Ayi Mukama, nnyonoonye, nkunyiizizza, mponya lwa kisa.” Abalabe bange basaakiriza nti: “Alifa ddi ne yeerabirwa?” Abajja okundaba boogera bitajja nsa. Banoonya bya ŋŋambo. Bwe bagenda, ze balaalaasa. Bonna abankyawa banjogerako obwama. Ebisinga obubi bye bandowoozaako. Bagamba nti: “Obulwadde bw'alwadde, si bwa kuwona, taliyimuka wansi.” Ne mukwano gwange, oyo gwe neesiganga ennyo, bwe tulya ku lujjuliro, afuuse mulabe ampaayo. Ayi Mukama, ba wa kisa, nnyimusa, ndyoke mbawoolere eggwanga. Omulabe wange tampangudde. Kino kindaze nti onjagala. Ompaniridde kubanga nkola ekituufu. Ontadde mu maaso go ennaku zonna. Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, otenderezebwe emirembe n'emirembe. Amiina era amiina. Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, nange bwe nkwettanira, ayi Katonda. Omwoyo gunnumira Katonda Nnannyinibulamu: ndijja ddi ne ndabika mu maaso ge? Emisana n'ekiro amaziga ye mmere yange. Buli budde nga bwe baŋŋamba nti: “Katonda wo ali ludda wa?” Bwe njijukira eby'edda, nennyamira! Nagendanga n'ekibiina ky'abantu, ne nkulemberamu nga tutambula okulaga mu nnyumba ya Katonda ng'essanyu litujjudde, tuyimba tusaakaanya ennyimba ezimutendereza. Kale kaakano, lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka neesige Katonda, kubanga ndiddamu ne mmutendereza, Katonda Omulokozi wange. Ayi Katonda wange, ennaku ennuma omwoyo! Kyenva nkulowoozaako nga ndi mu nsi ya Yorudaani ne ku nsozi z'e Herumooni ne ku kasozi Mizari. Ebiyiriro by'amazzi biyita binnaabyo, amazzi go ageefuukuula bwe gayira. Engezi yo yonna n'amayengo biyise ku nze! Mukama alaga ekisa kye emisana, ekiro ndyoke mbe n'oluyimba lwe nnyimba, nga nsaba Katonda akuuma obulamu bwange. Ŋŋamba Katonda antaasa nti: “Lwaki ggwe onneerabidde? Lwaki mbonyaabonyezebwa abalabe bange?” Njigganyizibwa ebivumo byabwe, nga bambuuza obutayosa nti: “Katonda wo ali ludda wa?” Kale lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka neesige Katonda, kubanga ndiddamu okumutendereza, Katonda Omulokozi wange. Ayi Katonda, sala omusango nsinge abalabe bange aboonoonyi. Mponya abalimba era ababi. Ggwe onkuuma. Lwaki onjabulidde? Lwaki abalabe bange bambonyaabonya? Mpa ekitangaala kyo n'amazima go binkulembere, bintuuse ku lusozi lwo olutukuvu, ne ku weema yo entukuvu, olwo ndyoke ntuuke ku alutaari yo, ggwe Katonda wange ansanyusa ennyo, nnyimbire ku nnanga nkutende ggwe ayi Katonda wange. Kale lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka nneesige Katonda kubanga ndiddamu ne mmutendereza, Katonda Omulokozi wange. Ayi Mukama, bajjajjaffe baatunyumiza ne twewulirira n'agaffe ebyewuunyo bye wakola edda mu biro byabwe. Wagoba mu nsi ab'amawanga amalala, owe bano we banaabeeranga. Wabonyaabonya abantu bali, bano n'obawa nnyo eddembe. Bajjajjaffe baawangula ensi eyo nga tebalwanyisa bitala. Baawangula olutalo newaakubadde nga tebaali ba maanyi. Gaali maanyi go na buyinza bwo n'okukakasa nti oli nabo, ebyabalaga okwagala kwo. Ggwe Kabaka wange era Katonda wange, ayamba abantu ba Yakobo ne bawangula. Olw'obuyinza bwo tuwangula abalabe baffe, ne tulinnyirira abatulumbagana. Seesiga mutego gwa kasaale kange, wadde ekitala kyange okumponya. Naye ggwe watuwonya abalabe baffe, n'owangula abatukyawa. Tuneenyumiririzanga mu ggwe Katonda, era tunaakwebazanga bulijjo. Naye kaakano otusudde muguluka, otulese ne tuwangulwa. Tokyatabaalira wamu na ggye lyaffe. Watuleka tudduke abalabe baffe, ne banyaga n'ebyaffe. Watuwaayo tuttibwe ng'endiga, n'otusaasaanya mu mawanga. Watunda abantu bo omuwendo omutono ogutaleese na magoba. Okkirizza baliraanwa baffe batuvume, abatwetoolodde batunyoome baseke. Otulese okugayibwa ab'amawanga amalala; batunyeenyeza emitwe mu bunyoomi. Obudde buziba nga nnyoomebwa, nzenna nzijudde kuswala nga mpulira ababoggola era abavuma, n'abalabe abawoolera eggwanga. Ebyo byonna bitutuuseeko newaakubadde tetukwerabidde, wadde okumenya endagaano gye wakola naffe. Tetukuvangako ffe, tetujeemeranga biragiro byo. Naye ggwe watusuula awali emisege, n'otuleka mu kizikiza ekizibu. Singa twerabidde Katonda waffe, ne tugezaako okusinza omulala, tewandikirabye ekyo Katonda amanya ebikisiddwa mu mutima? Olunaku lwonna tuli mu kabi ka kuttibwa ku lulwo. Tubalibwa ng'endiga ez'okuttibwa. Zuukuka, lwaki weebaka, ayi Mukama? Golokoka, totusuula nnaku zonna! Lwaki otwekweka n'otolabika? Lwaki ffe abalumwa era ababonaabona otwerabira? Twekubye mu nfuufu, tugudde ku ttaka wansi. Jjangu otuyambe. Otuwonye olw'ekisa kyo. Nzijudde ebirungi eby'okunyumya nga njiiya oluyimba lwa kabaka. Bye njogera byesomba ng'ebigambo by'omuwandiisi omwangu mu kuwandiika. Walungiwa okukira abalala, oyogeza kisa. Katonda yakuwa omukisa, era gwa nnaku zonna. Weesibe mu kiwato kyo olukoba okuli ekitala, ggwe ow'amaanyi: kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo. Ayi Kabaka weebagale okulwanirira obwenkanya era n'amazima. Oli wa maanyi, wangula otiibwe. Obusaale bwo bwa bwogi, bufumita emitima gy'abalabe bo. Amawanga gakuvuunamira. Entebe yo ey'obwakabaka, ayi Katonda, ebeerawo emirembe n'emirembe. N'obwakabaka bwo obufugisa bwenkanya. Wayagala obutuukirivu, n'okyawa ekibi. Katonda, Katonda wo, kyeyava akufukako omuzigo okukuwa ekitiibwa, n'osanyuka okusinga banno. Ebyambalo byo biwunya kawoowo ka mirra, n'aka alowe, n'aka kasiya. Mu mbiri ezitimbiddwa amasanga osanyusibwa ennanga. Mu bakyala abakuwembejja temubuzeemu bambejja. Nnamasole ayambadde ebya zaabu ebiteŋŋeenya. Akuyimiridde awo ku ludda lwo olwa ddyo. Muwala, wulira olowooze bye ŋŋamba, ababo n'ab'ekika kyo beerabire. Obulungi bwo kabaka alibwagala. Ye mukama wo, mufukaamirirenga. Ab'e Tiiro balikuleetera ebirabo, n'abagagga balyettanira okusiimibwa gy'oli. Mu lubiri omumbejja ekitiibwa kye kinene. Ekyambalo kye kya zaabu. Bamutwalayo ewa kabaka mu byambalo ebiteŋŋeenya. Emperekeze ezigoberera nazo zigenda wa kabaka. Bajjira mu ssanyu na kujaganya bayingire olubiri lwa kabaka. Abaana bo balisikira bajjajjaabo n'obafuula bakabaka, bafugenga ensi zonna. Onojjukirwanga bulijjo olw'oluyimba lwange luno. Bonna banaakutenderezanga ebiseera byonna ebijja. Katonda kye kiddukiro kyaffe, ge maanyi gaffe. Bulijjo yeeteeseteese okutuyamba mu buzibu. N'olwekyo tetuutyenga ensi ne bw'eneetabangukanga, ensozi ne bwe zinaasigukanga ne zeesuula mu buziba bw'ennyanja. Amazzi g'ennyanja ne bwe gayira ne geevulungujja, ensozi ne zinyeenyezebwa olw'okwetabula kw'amazzi ago. Waliwo omugga oguleeta essanyu mu kibuga kya Katonda, mu nnyumba ye, Atenkanika. Katonda ali mu kibuga ekyo, tekirinyeenyezebwa. Anaakiyambanga ng'obudde tebunnalaba. Katonda olwogeza amaanyi, amawanga gatiitiira, obwakabaka buyuuguuma, ensi n'esaanuuka. Mukama Nnannyinimagye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. Mujje mulabe Mukama by'akoze, mulabe ebyewuunyisa by'akoze ku nsi. Amalawo entalo mu nsi zonna, emitego gy'obusaale n'agimenya. N'azikiriza amafumu, amagaali n'agakumako omuliro. N'alagira nti: “Mukkakkane! Mumanye nti nze Katonda agulumizibwa mu mawanga gonna ne mu nsi zonna.” Mukama Nnannyinimagye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. Abantu mwenna mukube mu ngalo, mutendereze Katonda mumuyimbire n'essanyu, kubanga Mukama Atenkanika wa ntiisa. Ye Kabaka akira obukulu, ensi zonna ye azifuga. Atuwa okuwangula abantu, amawanga gaabwe ne tugeefugira. Yatulondera ensi mwe tubeera, etweyagaza ffe aba Yakobo gw'ayagala. Katonda alinnye waggulu ng'abamutenda basaakaanya. Mukama atumbidde waggulu nga bamufuuyira eŋŋombe. Muyimbire Katonda, mumutendereze. Kabaka waffe, muyimbe mumutendereze. Katonda ye Kabaka mu nsi zonna, muyimbe nnyo mumutendereze. Katonda afuga amawanga gonna, atudde ku ntebe ye entukuvu. Abafuzi b'amawanga bakuŋŋaanye n'abantu ba Katonda wa Aburahamu. Ab'obuyinza mu nsi Katonda ye abafuga, bonna ye abasukkulumye. Mukama mukulu agwanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu. Siyooni lusozi lulungi mu kugulumira kwalwo. Ekibuga kya kabaka omukulu, kisanyusa ensi yonna. Mu mayumba gaakyo Katonda yeeraze nga ye kye kiddukiro, kubanga bakabaka baakuŋŋaana ne bajjira wamu okukirumba. Bwe baakiraba ne beewuunya, ne batya ne babuna emiwabo. Ensisi n'ebakwatirayo, ne balumwa ng'omukazi bw'alumwa ng'azaala. Ne baba ng'amaato g'e Tarusiisi, agamenyebwa omuyaga gw'ebuvanjuba. Bye twawuliranga, era bye byo bye tulabye, mu kibuga kya Katonda waffe, Mukama Nnannyinimagye ky'akuuma emirembe gyonna. Twalowooza ku kisa kyo nga tuli wakati mu Ssinzizo lyo, ayi Mukama. Omanyiddwa mu nsi yonna, ayi Katonda, otenderezebwa buli wantu, ofugisa bwenkanya. Ab'oku Lusozi Siyooni basanyuke abantu b'omu Buyudaaya bajaganye, kubanga osala bulungi ensonga. Mutambule Siyooni mukyetooloole, mubale eminaala egirimu. Mwekalirize ebigo byakyo, mwetegereze amayu gaakyo, musobole okunyumiza ab'omulembe ogujja nti Katonda oyo ye Katonda waffe, ye anaatukulemberanga bulijjo. Muwulire kino ab'amawanga gonna, muwulirize mwenna abatuuze b'oku nsi: abeekitiibwa n'abakopi, abagagga wamu n'abaavu. Ebigambo bye njogera bya magezi, bye ndowooza bitegeerekeka. Nja kwetegereza olugero, ndunnyonnyolere ku nnanga. Siityenga mu biseera ebizibu, ng'abalabe bange banneetoolodde. Ababi abeesiga obugagga bwe balina, abeewaana olw'endulundu y'ebintu, mu bo teri ayinza kwenunula, n'awa Katonda ensimbi zigule obulamu. Obulamu bwe bwa muwendo nnyo, buli ky'alina okuwaayo tekimala, okumukuuma kimuwangaaze, aleme kuyingira magombe. Buli muntu akiraba nti n'abagezi bafa, abatamanyi wamu n'abasiru nabo bazikirira, n'obugagga bwabwe ne babulekera abalala. Entaana zaabwe ge maka gaabwe bulijjo mwe balisigala ennaku zonna, wadde baalina ettaka lye baayitanga eryabwe. Omuntu tabeerera mu kitiibwa, ali ng'ensolo ezizikirira. Laba ebituuka ku beesiga eby'obusiru, ne ku abo abasanyukira mu bugagga. Bali ng'endiga ezirundirwa emagombe. Walumbe ye musumba waabwe. Entaana zaabwe balizeesogga, era tebalirwawo kuvunda. Emagombe ye eriba amaka gaabwe. Naye Katonda alimponya emagombe, kubanga alinzikiriza mbe wuwe. Omuntu bw'agaggawala ekitiibwa kye ne kyeyongera, tomutyanga. Bw'alifa talibaako ky'atwala. Ekitiibwa kye tekirikka mu ntaana. Omuntu ne bwe yeewaana nti mu bulamu wa mukisa, ne bwe bamutendereza nga ne by'akola biramye, alikkayo emagombe naye, eri bajjajjaabe, enzikiza gy'ekutte. Omuntu alina ekitiibwa n'atakitegeera, ali ng'ensolo ezizikirira. Katonda Omuyinzawaabyonna, Mukama ayogera, ensi yonna n'agiyita okuva enjuba gy'eva okutuusiza ddala gy'egwa. Katonda ayakira mu Siyooni obulungi mwe bujjudde. Katonda waffe ajja, era tajja kusirika omuliro gwe gwaka, yetooloddwa kibuyaga omungi. Ayita eggulu n'ensi ng'asalira abantu be omusango: “Mukuŋŋaanyize wendi abeesigwa bange bwe twakola endagaano nga bampa ebitambiro.” Eggulu lirangirira nti Katonda mutuukirivu, yennyini ye mulamuzi. “Abantu bange muwulire, ka njogere, ka nkulumirize ggwe Yisirayeli, nze Katonda, Katonda wo. Sikunenya lwa bitambiro byo. Ebyokebwa tebibulawo by'ompa. Naye ente ennume ez'omu biraalo byo n'embuzi ennume ez'omu malundiro go sizeetaaga, kubanga ensolo zonna mu bibira zange, wamu n'amagana agali ku nkumi n'enkumi z'obusozi. Ebinyonyi we bifa byenkana byange na buli kiramu mu ttale kyange. “Singa enjala ennuma sigamba ggwe, kubanga ensi yonna n'ebigirimu byange. Ennyama y'ente ennume gye ndya? Wadde omusaayi gw'embuzi ennume gwe nnywa? Weerezanga Katonda ekitambiro eky'okumwebaza okolenga nga bw'osuubizza Atenkanika. Onkoowoolenga ng'oli mu buzibu, nnaakuyambanga, ggwe n'ontendereza.” Naye Katonda agamba omubi nti: “Lwaki ojeeja ebiragiro byange, n'oyogera ku ndagaano yange? Toyagala kugololebwa, ne bye nkugamba obisuula muguluka. Omubbi gw'olaba gw'okwana, oli wa kinywi n'abenzi. “Okwogera obubi lye ssanyu lyo, era tolonzalonza kulimba. W'obeera baganda bo obavuma, era n'obawaayiriza. Byonna ebyo wabikola ne nsirika, n'olowooza nti ndi nga ggwe. Naye kaakano nkunenya, ne nkulaga bw'okyamye. “Mmwe abanneerabira mwerinde nneme kubasaanyaawo, ng'ow'okubawonya tewali. Aleeta ekitambiro eky'okwebaza anzisaamu ekitiibwa, n'omulungi mu mpisa ze sirirema kumulokola.” Nkwatirwa ekisa, ayi Mukama omusaasizi. Olw'okusaasira kwo okungi nzigyaako emisango gyange gyonna. Nnaazaako ebisobyo byange, ekibi kinviireko ddala ntukule. Mmanyi nga bwe nayonoona, ndowooza ku kibi kyange bulijjo. Ggwe wennyini, ggwe nanyiiza, ne nkola ebitakusanyusa. Kyova obeera omutuufu mu by'oyogera, n'osala omusango ne gunsinga. Nali mu bibi okuva lwe nazaalibwa, nazaalibwa ndi mwonoonyi. Ggwe oyagala mazima mu mutima gw'omuntu. Njigiriza amagezi mu mwoyo gwange. Nzigyaako ekibi kyange mbe mulongoofu, onnaaze ntukule okusinga omuzira. Mpa okuwulira essanyu n'okwesiima. Newaakubadde wankuba n'ombonereza, nja kuddamu nsanyuke. Totunuulira bibi byange, nnaazaako ebyonoono byange byonna. Ntondaamu omutima omulongoofu, ayi Katonda, onteekemu omwoyo omuggya era omulungi. Tongoba mu maaso go, omwoyo gwo omutukuvu togunzigyako. Nziriza essanyu ly'owa buli gw'oba olokodde, ompe omwoyo ogusanyukira okukugondera ndyoke njigirize aboonoonyi ebiragiro byo, abakola ebibi bakyuke badde gy'oli. Omponye okuttibwa ayi Katonda Omulokozi wange, ndyoke nnyimbenga nnyo nga bw'oli omulungi. Ayi Mukama, onnyambe okwogera, ndyoke nsobole okukutendereza. Ggwe toyagala bitambiro ne bwe nandibikuwadde, wadde ebiweebwayo ne byokebwa tebikusanyusa. Ekitambiro kyange, gwe mutima ogwenenyezza, ayi Katonda. Omutima ogwenenyezza era oguboneredde togugaya. Ayi Katonda, beera wa kisa ku Siyooni, ozimbe buggya ebisenge bya Yerusaalemu, olyoke osanyukire ebitambiro ebitukuvu, n'ebiweebwayo ne byokebwa, n'ente ennume ziweebweyo ku alutaari yo. Ggwe ow'amaanyi, lwaki weenyumiriza olw'ettima lyo? Ekisa kya Katonda kya lubeerera. Oteekateeka okuzikiriza abalala, ebigambo byo biri ng'ekiso ekyogi, bulijjo oyiiya eby'obulimba. Oyagala ebibi okusinga ebirungi, oyagala obulimba okusinga amazima. Oyagala ebigambo ebirumya abalala, mulimba ggwe! Katonda kyaliva akuzikiriza emirembe gyonna. Alikukwata n'akusika mu nnyumba yo n'akuggya mu nsi y'abalamu. Abantu abalungi baliraba kino ne batya. Balikusekerera ne bagamba nti: “Laba, ono ye ateesiganga Katonda kumukuuma, wabula eyeesiganga obugagga bwe obungi, n'asuubira nti okukola ebibi kulimukuuma.” Naye nze ndi ng'omuti omuzayiti ogukulira mu nnyumba ya Katonda: neesiga kisa kya Katonda emirembe gyonna. Nnaakwebazanga bulijjo ayi Katonda, olw'ebyo by'okoze mu maaso g'abatukuvu bo. Nnaayatulanga bulijjo bw'oli omulungi. Abasirusiru bagamba mu mitima gyabwe nti: “Tewali Katonda.” Boonoonese, bakoze ebibi ebyenyinyalwa, tewali n'omu akola kirungi. Katonda asinziira mu ggulu n'atunuulira abantu, alabe oba nga waliwo abategeera, oba nga waliwo abamunoonya. Naye bonna bamuvuddeko. Bonna be bamu: boonoonyi. Tewali n'omu akola kirungi, wadde omu bw'ati. Abakola ebibi tebalina magezi? Bakavvula abantu bange ng'abalya emmere, era tebasinza Katonda. Naye balitya nnyo, mu ngeri gye baali tebatyangamu, kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g'abo abazingiza abantu be. Olibawangula ne baswala, kubanga Katonda yababoola. Singa nno oyo aliwonya Yisirayeli alisinziira mu Siyooni! Katonda bw'alizzaawo embeera ennungi mu bantu be, aba Yakobo balisanyuka, Abayisirayeli balijaguza. Ayi Katonda, ndokola n'obuyinza bwo, mponya n'amaanyi go. Wulira kye nsaba, ayi Katonda, wuliriza bye njogera. Abeekulumbaza bazze okunnumba, abakambwe baagala okunzita. Tebafa ku Katonda. Naye Katonda ye annyamba Mukama ye awanirira obulamu bwange. Alibonereza abalabe bange, ebibi byabwe bibaddire. Ayi Mukama, ndikuwa ekitambiro nga nsanyuka, ndikwebaza kubanga oli mulungi. Onzigye mu bizibu byange byonna, era ndabye abalabe bange nga bawanguddwa. Ayi Katonda, wulira okusaba kwange, togoba kwegayirira kwange. Ompulirize onziremu, ebizibu byange binkooyezza. Okuleekaana kw'abalabe n'okuyigganyizibwa ababi bintiisizza, kubanga bankolako obulabe, bansunguwalidde era bankyaye. Nzijudde obuyinike, ekikangabwa ky'okufa kintiisizza. Okutya n'okukankana binkutte, ekyekango kintekemudde. Era ŋŋamba nti: “Singa mbadde n'ebiwaawaatiro ng'ejjiba, nandibuuse ne nnoonya gye mpummulira. Nandibuuse ne ŋŋenda wala, ne mbeera eyo mu ddungu. Nandizudde mangu we nneewogoma, ne mpona empewo ennyingi n'omuyaga.” Ayi Mukama, zikiriza olulimi lwabwe, otabuletabule bye boogera, kubanga ndaba eby'obukambwe n'okuyombagana mu kibuga. Emisana n'ekiro beetooloola ebisenge byakyo, ne bakijjuza ebikolwa ebibi n'emitawaana. Boonoona ebintu mu kibuga, enguudo zaakyo tezibulamu bya kulumya bantu na bya bukuusa. Singa omulabe ye anvuma, nandiyinzizza okugumiikiriza. Singa oyo ankyaye ye anneewulirirako, nandimwekwese. Naye akola ekyo ye ggwe munnange, mukwano gwange bwe tuyita. Twanyumyanga ffembi emboozi ey'akafubo twasinzizanga wamu mu nnyumba ya Katonda. Okufa kutuuke ku balabe bange nga tebakulindiridde. Bakke emagombe nga bakyali balamu, kubanga ekibi kiri mu maka gaabwe ne mu mitima gyabwe. Naye nze mpita Katonda annyambe, Mukama ajja kundokola. Ku makya, mu ttuntu n'akawungeezi neemulugunya nga nsinda. Ajja kuwulira eddoboozi lyange. Alinkomyawo mirembe mu lutalo, lwe nnwana n'abalabe abangi. Katonda eyafuga okuva emirembe gyonna aliwulira n'abawangula, kubanga tebakyukako, era tebatya Katonda. Eyali munnange yalumbagana mikwano gye, n'amenya endagaano gye yakola. Ebigambo bye byali bigonvu okusinga omuzigo, naye byali bitala ebyogi, nga ky'alina mu mutima gwe, lwe lutalo. Ebizibu byo bikwasenga Mukama, anaakuyambanga. Taalekenga bantu beesigwa kuwangulwa. Naye ggwe ayi Mukama, abantu abatemu n'abalimba olibasuula mu ntaana ng'emyaka gye bandiwangadde tebannagituusa na wakati. Naye nze nnaakwesiganga. Nkwatirwa ekisa ayi Katonda, kubanga abantu bannumba. Abalabe banjigganya olunaku lwonna. Abalabe bange bannumba okuva enkya okuzibya obudde. Abeekulumbaza bangi abannwanyisa. Buli lwe ntya, neesiga ggwe. Katonda gwe neesiga, siritya. Mmutendereza olw'ebyo by'asuubiza. Abantu obuntu bayinza kunkola ki? Olunaku lwonna abalabe bange bateesa bya kunnumya. Kye balowooza bulijjo kwe kunkolako obulabe. Beekuŋŋaanya ne beekweka, ne baketta buli kye nkola nga bateega okunzita. Ayi Katonda, babonereze olw'ebibi byabwe. Mu busungu bwo, wangula abantu abo. Ggwe omanyi nga bwe ntawaanyizibwa. Teeka amaziga gange mu ccupa yo. Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo? Ku lunaku lwe ndikukoowoola, abalabe bange balizzibwayo emabega. Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange. Katonda mmutendereza olw'ebyo by'asuubiza. Katonda gwe neesiga, siritya. Abantu obuntu bayinza kunkola ki? Ayi Katonda, ndituukiriza byonna bye nkusuubizza. Ndikuwa ebirabo olw'okukwebaza, kubanga omponyezza okufa, n'ompanirira obutagwa, ntambulire mu maaso ga Katonda, mu kitangaala ekyakira abalamu. Nkwatirwa ekisa, ayi Katonda, nkwatirwa ekisa, kubanga nzirukira gy'oli. Nzirukira mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo, okutuusa obucwano lwe buliggwaawo. Nkoowoola Katonda Atenkanika, Katonda atuukiriza bye yantegekera. Alisinziira mu ggulu eyo n'andokola, aliwangula abandoobya. Katonda alindaga ekisa kye, alindaga bwe yeesigibwa. Ndi mu mpologoma wakati ez'amaddu ezikavvula abantu. Amannyo gazisongodde ng'obusaale n'amafumu. Ennimi zaazo kye kitala ekyogi. Gulumizibwa okusinga eggulu, ayi Katonda, ekitiibwa kyo kibune ensi zonna. Abalabe bange bateze ekitimba bankwase, obuyinike bumpese! Basimye obunnya mu kkubo lyange, naye bo bennyini be babuguddemu. Omutima gwange mugumu, ayi Katonda, omutima gwange mugumu, nnaayimba ne nkutendereza. Zuukuka ggwe mwoyo gwange, zuukuka ggwe entongooli! Oli ludda wa ggwe ennanga? Ŋŋenda okuzuukusa emmambya! Nnaakwebaza, ayi Mukama nga ndi mu bantu. Nnaayimba ne nkutenderereza mu mawanga. Ekisa kyo kigulumivu okutuuka ku ggulu. Obwesigwa bwo butuuka ne ku bire. Gulumizibwa okusinga eggulu, ayi Katonda, ekitiibwa kyo kibune ensi zonna. Mmwe abafuzi, musala bulungi emisango? Abantu mubalamula mu bwenkanya? Nedda! Mulowooza ku kukola bibi. Mukola bya bukambwe mu nsi. Ababi bazaalibwa nga babi, obulimba babutandika nga bato. Bajjudde obusagwa ng'obw'omusota, bali nga ssalambwa eritawulira, erizibikira amatu gaalyo, ne litawulira ddoboozi lya mukwasi wa misota, oba ery'omulozi omukugu. Ayi Katonda, bakuulemu amannyo, menya amannyo, ayi Mukama, ag'empologoma ezo enkambwe. Baggweewo ng'amazzi agakulukuta, bawotoke ng'omuddo ogulinnyirirwa. Babe ng'ekkovu erisaanuuka, babe ng'omwana omusowole atalaba ku kitangaala. Balimibwewo ng'omuddo, nga tebannamanya. Katonda abasunguwalire nnyo, abasaanyeewo nga balaba. Abatuukirivu balyesiima bwe baliraba aboonoonyi bwe babonerezebwa. Balirinnya mu musaayi gw'ababi. Abantu baligamba nti: “Ddala abatuukirivu bafuna empeera. Ddala Katonda waali, asala omusango mu nsi!” Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange, ntaasa abannumba. Mponya abakola ebibi, ntaasa abatemu, kubanga laba, banteeze banzite. Ab'amaanyi beekobye okunnumba nga sirina kibi na musango, ayi Mukama. Beetegeka bannumbe, nze atalina musango. Jjangu olabe, yanguwa onnyambe. Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, ggwe Katonda wa Yisirayeli. Jjangu obonereze amawanga gonna tosaasira n'omu ow'enkwe ateesa okukola ebibi. Bakomawo buli kawungeezi nga bakaaba ng'embwa, ne beetooloola ekibuga. Baabo bavuma era batiisatiisa, olulimi lubali ng'ekitala mu kamwa kaabwe. Balowooza nti tewali abawulira. Naye ggwe ayi Mukama, obasekerera, osunga abantu bonna ab'ensi. Amaanyi go ge neesiga, gy'oli gye nzirukira, ayi Katonda. Katonda wange anjagala, era alinsisinkana, n'andabisa abalabe bange nga bawanguddwa. Tobatta, ayi Katonda, sikulwa ng'abantu bange beerabira. Basaasaanye n'amaanyi go, obawangule, ayi ggwe Katonda atutaasa ng'engabo. Okwogera ebibi tekubava ku mimwa. Bakwatibwe mu kwekulumbaza kwabwe olw'okukolima n'olw'okulimba kwabwe. Ggwe bazikirize mu busungu bwo, bazikirize baggweerewo ddala, abantu bonna balyoke bamanye nti Katonda ye afuga mu Yisirayeli, ne mu mawanga gonna ku nsi. Bakomawo buli kawungeezi nga bakaaba ng'embwa ne beetooloola ekibuga. Babungeeta nga banoonya ebyokulya, ne bawoggana nga tebafunye bimala. Naye nze nnaayimbanga okutenda amaanyi go. Buli nkya nnaayimbanga okutenda ekisa kyo, kubanga obadde kiddukiro kyange, mwe nneekweka nga ndi mu buzibu. Nnaayimbanga okukutendereza ggwe antaasa, kubanga ggwe ayi Katonda, onjagala, era ggwe kiddukiro kyange. Ayi Katonda otusudde, otumenyeemenye. Otusunguwalidde. Naye tukwegayiridde otukomyewo. Okankanyizza ensi n'ogyasaayasa. Kaakati ziba enjatika zaayo, kubanga yeeyabyamu. Abantu bo otulese ne tubonaabona nnyo, tutalantuka ng'abatamiivu. Olabudde abakussaamu ekitiibwa basobole okuwona akabi. Nziraamu kye nkusaba, otuwonye n'obuyinza bwo, baganzi bo tununulibwe. Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu n'agamba nti: “Ndijaguza nga ngabanya mu Sekemu, ne ngaba ebitundu by'ekiwonvu Sukkoti. Gileyaadi nsi yange, ne Manasse yange. Efurayimu ye nkuufiira yange, Buyudaaya gwe muggo gwange ogw'obwakabaka. Mowaabu ye bbenseni mwe nnaabira. Edomu gye nkasukako engatto zange okulaga nti nsi yange. Mu Filistiya njogeza maanyi olw'obuwanguzi.” Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani alintuusa mu Edomu? Otuvuddemu ayi Katonda? Tokyatambulira wamu na magye gaffe ayi Katonda. Tuyambe okulwanyisa omulabe, kubanga obuyambi bw'abantu tebugasa. Nga Katonda ali ku ludda lwaffe tuliba ba maanyi. Ye alirinnyirira abalabe baffe. Ayi Mukama, wulira okukaaba kwange, wuliriza okwegayirira kwange. Nkuyita nga ndi wala n'ewaffe, era nga nterebuse. Ntwala mu kifo ekyesiifu, kubanga ggwe kiddukiro kyange, ggwe w'amaanyi antaasa abalabe. Ka mbeerenga mu weema yo ennaku zonna, nneekwekenga mu biwaawaatiro byo. Owulidde bye nsuubizza, ayi Katonda, ompadde by'ogabira abakussaamu ekitiibwa. Wanvuya obulamu bwa kabaka, awangaale emyaka n'emyaka, afuge ng'ali mu maaso go ennaku zonna. Ayi Katonda, ggwe ow'ekisa era omwesigwa, mukuumenga, ndyoke nnyimbenga okukutendereza ennaku zonna, nga ntuukiriza buli lunaku bye nsuubizza. Ngumiikiriza ne nnindirira Katonda okundokola, yekka ye Mulokozi wange. Ye yekka ankuuma era andokola, ye antaasa, siriwangulwa n'akatono. Mmwe mwenna mulituusa wa okulumba omuntu okumutta ng'ali ng'ekisenge ekyewunzise n'olukomera olugwa? Kiri kimu kye muteesa: kumuwanula ku bukulu bwe. Musanyukira eby'obulimba, mwogera ebimusabira omukisa, naye mu mutima mumukolimira. Neesiga Katonda yekka, essuubi lyange liri mu ye. Ye yekka ankuuma era andokola, ye antaasa, siriwangulwa. Katonda ye annunula ne mba waakitiibwa, Katonda kye kiddukiro ekigumu mwe nneekukuma. Mmwe abantu mumwesigenga bulijjo, mumwanjulirenga ebibeeraliikiriza, kubanga gy'ali gye muddukira. Ddala abantu mukka bukka. Ne bwe baba baakitiibwa, bawewuka mu minzaani, omukka gubasinga obuzito. Temwesiganga bunyazi, n'okubba temukweyinulanga. Obugagga ne bwe bweyongera obungi, temubwesigulanga. Katonda ayogedde ne mmuwulira, emirundi egisoba mu gumu nti: “Obuyinza Katonda ye nnyinibwo.” Era nti: “Ekisa kye kya lubeerera,” kubanga ayi Mukama, buli muntu omusasula ng'omulimu gwe bwe guli. Ayi Katonda, ggwe Katonda wange, nkulumirwa omwoyo. Obulamu bwange bukwetaaga ng'ensi enkalu erakasidde, bwe yeetaaga amazzi. Bwe ntyo neegomba okukulaba mu kifo ekitukuvu, ndabe nga bw'oli ow'obuyinza era oweekitiibwa. Ekisa kyo kinkirira obulamu bwennyini. Nnaakutenderezanga. Nnaakwebazanga obulamu bwange bwonna, nnaayimusanga emikono gyange nga nkusinza. Nnaamatiranga ng'alidde obusomyo n'amasavu, ne nkutenderereza mu nnyimba ez'essanyu. Nkulowoozaako ekiro nga ndi ku kitanda kyange. Nsisimuka ne nkujjukira, kubanga onnyamba bulijjo. Nsanyukira mu kisiikirize ky'ebiwaawaatiro byo. Nkwekwatako n'ompanirira n'amaanyi go. Abagezaako okunzita baligenda emagombe. Balittibwa n'ekitala, ebibe ne bibeeriira. Naye kabaka alisanyuka, olw'ebyo Katonda by'akola. Buli alayira Katonda alyenyumiriza. Aboogera eby'obulimba baliggalwa akamwa. Wulira ayi Katonda wulira bwe nkaaba. Kuuma obulamu bwange, nnemenga okutya abalabe. Ggwe mponya entegeka ze bateeseza mu kyama, era mponya oluyoogaano lw'ababi, abawagala ennimi zaabwe ng'ebitala. Ebigambo eby'obukambwe babireega ng'obusaale, atalina musango bamulasize we beekwese. Bamugwako nga talaba, tebatya. Mu kuteesa ekibi bagumyagana: bateesa we banaateeka emitego gyabwe mu kyama, ne bagamba nti: “Ani anaagiraba?” Bateesa ekibi ne bagamba nti: “Entegeka eno gye tukoze, tewali kinaagirema.” Ebirowoozo by'omuntu mu mutima gwe munda, nga ddala bituuka wala! Naye Katonda alibalasa n'obusaale ne bafumitibwa mbagirawo. Alibazikiriza olw'ebigambo bye boogera. Bonna ababalaba balinyeenya emitwe. Abantu bonna balitya ne balowooza ku ebyo Katonda by'akoze, ne boogera ku bikolwa bye. Abakola ebituufu balisanyuka olw'ebyo Mukama by'akoze, bonna ab'omutima omulongoofu balimutendereza. Ayi Katonda, ogwanira ettendo mu Siyooni n'okuweebwa ebyakusuubizibwa. Ayi ggwe awulira okusaba, abantu bonna balijja gy'oli olw'ebibi byabwe. Ebibi byaffe ne bwe bituyitirirako, ggwe obitusonyiwa. Wa mukisa oyo gw'olonda n'omusembeza kumpi abeerenga mu kifo kyo ekitukuvu. Tunakkusibwanga ebirungi eby'omu nnyumba yo, eby'omu Ssinzizo lyo ettukuvu. Ayi Katonda Omulokozi waffe, otwanukula ng'otununula n'ebikolwa eby'entiisa. Abantu bonna ku nsi n'abali emitala w'amayanja beesiga ggwe. Oli wa maanyi, era obuyinza bwo bwe bunyweza ensozi mu bifo byazo. Osirisa okuwuuma kw'ennyanja, n'okw'amayengo gaayo. Osirisa okwegugunga kw'amawanga. Abantu mu nsi zonna batya ebyamagero by'okola. Obajjuza essanyu okuva ku makya okutuusa olweggulo. Ayi Katonda, olambula ensi n'ogifukirira, era n'ogigaggawaza nnyo. Emigga ogijjuza amazzi. Oteekateeka ensi bw'otyo, n'olabirira ebirime byayo. Obulime bwayo obufukirira amazzi mangi ne bugonda. Ettaka olinnyikiza enkuba n'okuza ebirime byalyo. Omwaka ogujjuza ebirungi byo, buli w'oyita olekawo ekyengera. Amalundiro g'omu ddungu gakubyeko ebisolo obusozi bujjudde essanyu. Amalundiro gajjudde amagana, n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano. Buli kintu kisaakaanya nga kiyimba olw'essanyu. Ggwe ensi sanyuka otendereze Katonda. Yimba okutenda ekitiibwa kye, omugulumize ng'omutendereza. Gamba Katonda nti: “By'okola nga byewuunyisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemulukukira. Bonna ku nsi balikusinza, bakuyimbire nga bakutendereza.” Mujje mulabe Katonda by'akola, atiisa mu by'akolera abantu. Ennyanja yagifuula olukalu, ne bagisomosa bigere. Tusanyukirenga by'akola. Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna, ne yeekaliriza amawanga, abajeemu balemenga okwegulumiza. Mmwe amawanga gonna mutendereze Katonda waffe, eddoboozi erimutendereza liwulirwe. Atukuuma nga tuli balamu, era tatuleka kugwa. Ayi Katonda, watugeza, watugeza nga ffeeza bw'agezebwa mu muliro. Watuleka okuyingira mu kitimba, watutikka emigugu emizito. Waleka abalabe baffe okutulinnya ku mitwe. Twayita mu muliro ne mu mazzi, naye wabituggyamu n'otutuusa mu kifo eky'emirembe. Nnaaleeta mu nnyumba yo ebiweebwayo ne byokebwa. Nnaakuwa bye nakusuubiza. Nnaakuwa bye neetema bwe nali mu buzibu. Nnaakuwa ebyassava ebyokebwa. Nnaawaayo endiga eza sseddume n'ente n'embuzi byokebwe binyooke omukka. Mwenna abassaamu Katonda ekitiibwa mujje muwulire, mbabuulire bye yankolera. Namukoowoola annyambe, era nayimba okumutendereza. Singa nalina ebirowoozo ebibi mu mutima, Mukama teyandimpulidde. Naye ddala Katonda ampulidde, alowoozezza ku bye mmusaba. Katonda yeebazibwe kubanga tagaanye kye mmusaba era akkirizza okunkwatirwa ekisa. Ayi Katonda, tukwatirwe ekisa, otuwenga omukisa, otutunuulize amaaso ag'ekisa, ensi yonna eryoke emanye by'oyagala, amawanga gonna gamanye bw'olokola. Abantu bakutenderezenga, ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga. Amawanga gasanyukenga, gayimbenga olw'essanyu kubanga osalira abantu emisango mu bwenkanya, era ofuga amawanga gonna mu nsi. Abantu bakutenderezenga, ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga. Ensi ebazizza ebibala bingi, Katonda, Katonda waffe atuwadde omukisa. Katonda atuwadde omukisa, abantu mu nsi zonna bamussengamu ekitiibwa. Katonda k'asituke, abalabe be basaasaane. Abafuumuule ng'omukka bwe gufuumuuka. Ng'envumbo bw'esaanuuka awali omuliro, n'ababi bwe baba bazikirira awali Katonda. Naye abo abakola Katonda by'ayagala, basanyuke bajaganye mu maaso ge, bajaguze olw'essanyu. Muyimbire Katonda mumutendereze. Mumulongooseze ekkubo, atambulira mu bire. Mukama lye linnya lye, mujagulize mu maaso ge. Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu, ye alabirira abatalina kitaabwe, era ye akuuma bannamwandu. Abatalina abayamba Katonda abawa ennyumba mwe basula. Aggya abasibe mu kkomera, n'abatuusa ku ddembe. Naye abajeemu babeera mu nsi enkalu. Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo, bwe watambula mu ddungu, ensi yakankana, enkuba yafukumuka, Olusozi Sinaayi lwakankana olw'okujja kwa Katonda wa Yisirayeli. Watonnyesa enkuba nnyingi, ayi Katonda, n'onnyikiza ensi yo eyali erakasidde, abantu bo ne basenga omwo. Olw'ekisa kyo, abaavu wabawa bye beetaaga. Mukama yawa ekiragiro, bangi ne batwala amawulire nti: “Bakabaka b'amagye badduka.” Abakazi abasigala awaka be bagabana omunyago. Mmwe musigala mugalamidde mu bisibo by'endiga, ng'ejjiba ery'ebiwaawaatiro ebibikkiddwako ffeeza, n'ebyoya ebiriko zaabu atemagana. Katonda Omuyinzawaabyonna bwe yasaasaanya bakabaka ku Lusozi Salumooni, omuzira gwagwako. Basani nga lusozi lunene: Basani lulina emitwe emigulumivu! Ggwe olusozi olw'emitwe emigulumivu, lwaki oziimuula olusozi Katonda lwe yayagala okubeerako? Ddala alirubeerako ennaku zonna. Mukama ava ku Sinaayi n'amagaali ge obukumi n'obukumi, n'ayingira mu kifo ekitukuvu. Alinnya ku lusozi oluwanvu ng'atwala abasibe bangi. Afunye ebirabo bingi mu bantu, ne mu abo abajeemu. Mukama anaabeeranga eyo. Mukama atuwanirira buli lunaku, atenderezebwe. Ye Katonda atulokola. Katonda waffe ye Katonda alokola, era Katonda ye Mukama atuwonya okufa. Ddala Katonda alyasa emitwe gy'abalabe be, egy'abanyiikira okuzza emisango. Mukama yagamba nti: “Ndikomyawo abalabe bo okuva e Basani, ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja, olyoke olinnye mu musaayi gwabwe, n'embwa zo zigukombenga nga bwe zaagala.” Ayi Katonda, bonna balabye bw'otambula, bw'otambula ggwe Katonda wange, Kabaka wange, ng'oyingira mu kifo kyo ekitukuvu. Abayimbi be bakulembedde, ab'ebivuga ne baddirira. Wakati we wali abawala abagenda bakuba ensaasi. Mwebalize Katonda mu lukuŋŋaana olunene, mutendereze Mukama mmwe abasibuka mu Yisirayeli. Benyamiini asembayo obuto abakulembere, kuddeko abalangira ba Yuda. Bagobererwe abakungu ba Zebbulooni n'aba Nafutaali. Laga obuyinza bwo, ayi Katonda, n'amaanyi ge wakozesa okugasa ffe. Olw'Essinzizo lyo eriri mu Yerusaalemu, bakabona banaakuleeteranga ebirabo. Boggolera ensolo ezo ez'omu kisaalu, boggolera amawanga, ente ezo ennume, n'ennyana zaakwo, okutuusa zonna lwe zirivuunama ne zikutonera ffeeza. Saasaanya abantu abaagala entalo. Ababaka baliva e Misiri, n'ab'e Etiyopiya baligolola emikono eri Katonda nga bamusinza. Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka bw'ensi. Muyimbire eyeebagala ku ggulu eryabaawo edda n'edda lyonna. Muwulire bw'ayogera n'eddoboozi lye ery'amaanyi. Mumukkirize nti wa buyinza, ekitiibwa kye kifuga Yisirayeli n'obuyinza bwe buli mu ggulu. Katonda nga wa ntiisa mu kifo kye ekitukuvu, Katonda oyo owa Yisirayeli! Awa abantu be obuyinza n'amaanyi. Katonda atenderezebwe Mponya ayi Mukama: amazzi gankoma mu bulago! Ntubira mu ttosi eggwanvu, tewali wagumu we nninnya. Ntuuse mu buziba wakati, amayengo gammira gammalawo! Okukaaba kunkooyezza, obulago bunkaze. Amaaso gakutte ekifu, nga nnindirira ggwe Katonda wange. Abankyayira obwemage bangi, okusinga enviiri ez'oku mutwe gwange. Abalabe bange bampaayiriza. Ba maanyi, baagala okunzita, bampaliriza nzizeeyo bye sabba. Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange, n'ebibi byange tebikukisiddwa. Abakwesiga tobaleka kuswala ku lwange, ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye! Abakunoonya tondeka kubaswaza, ayi Katonda wa Yisirayeli! Banvuma lwa kubeera ggwe, ne nswala. Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange, mugwira eri abaana ba mmange, kubanga okwagala ennyumba yo kundidde, ne bye bavuma ggwe bizze ku nze. Nkaaba amaziga ne nsiiba enjala, ekyo ne kinvumya. Bwe nayambala ekikutiya, ne mbafuukira eŋŋombo. Njogerwako abatuula ku mulyango n'abatamiivu bajeeja nze. Naye nze neegayirira ggwe, ayi Mukama, onziremu mu kiseera ky'osiima, ayi Katonda. Onziremu kubanga olina ekisa kingi, era oli mwesigwa mu kuyamba. Mponya okutubira mu ttosi, ontaase abalabe bange, onzigye mu mazzi ag'eddubi. Toleka mayengo kunsaanyaawo, ne nzikirira ebuziba, wadde okumiribwa obunnya. Nziraamu ayi Mukama ow'ekisa, omulungi! Ggwe ajjudde okusaasira, kyuka otunuleko gye ndi! Tonneekweka nze omuddu wo. Ndi mu buyinike, yanguwa okunziramu. Sembera we ndi ondokole, omponye abalabe bange. Okimanyi bwe nvumibwa, bwe nswazibwa, ne nnyoomebwa. Abalabe bange bonna obalaba. Okuvumibwa kummenye omutima, era kunterebudde. Nnoonyezza anansaasira n'ambula, era siraba banansanyusa. Mu kifo ky'emmere bampa mususa. Ennyonta bwe yannuma bannywesa nkaatu. Kale ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego. Emirembe gye balimu gibafuukire ekigu. Amaaso gaabwe gasiikirizibwe baleme okulaba, okankanyenga emigongo gyabwe ennaku zonna. Obayiwengako ekiruyi kyo, obasunguwalirenga n'obukambwe. We basiisira wasigalenga matongo, walemenga kubaawo n'omu abeera mu weema zaabwe, kubanga bayigganya b'obonereza, era boogera ku b'ofumise. Yongeranga okubabonereza olemenga kubasonyiwa. Amannya gaabwe gasangulwe mu kitabo ky'abalamu, baggyibwe ku lukalala lw'abantu bo abeesigwa. Naye nze ndi munaku era ndi mu bulumi. Nsitula, ayi Mukama, ondokole. Nnaatenderezanga Katonda nga nnyimba, nnaamugulumizanga nga mmwebaza. Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume erina amayembe n'ebinuulo. Abanyigirizibwa bwe baliraba kino, balisanyuka. Abasinza Katonda baliddamu amaanyi. Mukama awulira abali mu bwetaavu, era teyeerabira bantu be abasibe. Eggulu n'ensi bimutenderezenga, ennyanja n'ebiramu byonna ebirimu, kubanga Katonda alirokola Siyooni, n'azimba buggya ebibuga bya Yuda. Abantu be balibeera omwo, ensi n'ebeera yaabwe. Eriba ya bazzukulu b'abaweereza be, n'abo abamwagala, be baligibeeramu. Ayi Katonda, kkiriza okumponya, ayi Mukama, yanguwa okunnyamba. Abaagala okunzita bakwatibwe ensonyi baswale. Abasanyukira ennaku yange, bazzibwe emabega nga baswadde. Abansekerera, batye era baswale. Bonna abeeyuna gy'oli, basanyuke bajaguze. Abakwebaza olw'okubalokola bagambenga bulijjo nti: “Katonda agulumizibwe”. Nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, yanguwa okujja gye ndi, ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe omponya, ayi Mukama, tolwa! Ayi Mukama, nzirukira gy'oli, tondeka kuswala. Nnyamba ontaase, kubanga oli mulungi, mpulira ondokole. Obe ekiddukiro kyange ekinkuuma, ekigo kyange ekigumu mwe mponera, kubanga ggwe kiddukiro kyange era ekigo kyange. Ayi Katonda wange, mponya omwonoonyi, nzigya mu mikono gy'omubi era omukambwe. Ayi Mukama Katonda, essuubi lyange liri mu ggwe, nneesiga ggwe okuviira ddala mu buto bwange. Ggwe wampanirira okuviira ddala lwe nazaalibwa, ggwe wanzigya mu nda ya mmange. Nnaakutenderezanga bulijjo. Obulamu bwange bwewuunyisa bangi, naye ggwe w'amaanyi, ggwe ontaasa. Nkutendereza olunaku lwonna, ne nkugulumiza. Kaakano tonsuula nga nkaddiye, tonjabulira nga sikyalina maanyi. Abalabe bange banjogerako, ne bateesa nga baagala okunzita. Bagamba nti: “Katonda amwabulidde. Mumugoberere mumukwate, tewali anaamuyamba.” Ayi Katonda, tombeera wala. Ayi Katonda wange, yanguwa okunnyamba. Abannumba bawangulwe bazikirizibwe, abaagala okunnumya baswazibwe banyoomebwe. Naye nze nnaasuubiranga bulijjo nnaayongeranga okukutendereza. Nnaatendanga ebirungi by'okola, olunaku lwonna nnaayogeranga ku by'okola okulokola, newaakubadde nga sisobola kubitegeera. Nnaatenderezanga obuyinza bwo, ayi Mukama Katonda. Nnaatenderezanga obutuukirivu bwo, obubwo bwokka. Ayi Katonda, wanjigiriza okuva mu buto bwange era ne kati nkyayogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa. Kaakati nga nkaddiye, nga mmeze n'envi, tonjabulira, ayi Katonda. Beera nange, mmanyisenga amaanyi go, n'obuyinza bwo emirembe egijja. Obutuukirivu bwo, ayi Katonda bugulumivu okutuuka ku ggulu. Ggwe eyakola ebikulu, ayi Katonda, tewali ali nga ggwe. Ggwe eyandeka ne mbonaabona nnyo era ggwe olinzizaamu amaanyi, onzigye emagombe. Olinnyongera ekitiibwa, n'oddamu okunsanyusa. Nnaakutenderezanga nga nkuba endongo, kubanga oli mwesigwa, ayi Katonda wange. Nnaakutenderezanga nga nnyimba ku nnanga, ayi ggwe Omutuukirivu wa Yisirayeli. Nnaasanyukanga n'omutima gwange gwonna nga nnyimba okukutendereza, kubanga wandokola. Olunaku lwonna nnaayogeranga ku bulungi bwo, kubanga abaagala okunkolako akabi bakwatiddwa ensonyi, baswaziddwa. Ayi Katonda, kabaka muwe alamulenga nga ggwe, muwe ku mazima go alyoke afugenga abantu bo mu mazima, n'abanyigirizibwa abafugenga bulungi. Ensi ebeeremu emirembe, ebeere bulungi. Kabaka alabirire abaavu, ayambe abali mu bwetaavu, amenye ababanyigiriza. Abantu bakusinzenga emirembe gyonna, enjuba n'omwezi gye birimala nga bikyayaka. Kabaka abe ng'enkuba etonnya mu nnimiro, abe ng'oluwandaggirize olufukirira ettaka. Mu mulembe gwe abalungi balifuna omukisa, walibaawo emirembe mingi, okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka. Alifuga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja; okuva ku Mugga Ewufuraate okutuuka ensi gy'ekoma. Ababeera mu ddungu balimufukaamirira, n'abalabe be balikomba enfuufu. Bakabaka b'e Tarusiisi n'ab'oku bizinga balimuleetera ebirabo. Bakabaka b'e Buwarabu n'ab'Etiyopiya nabo balimuwa ebirabo. Bakabaka bonna balimuvuunamira, amawanga gonna ganaamuweerezanga, kubanga adduukirira omunaku amukaabirira, n'omwavu atalina buyambi. Asaasira abaavu n'abanaku, awonya obulamu bw'abateeyamba. Abawonya okujoogebwa n'okuyisibwa obubi, obulamu bwabwe abuyita bwa muwendo. Awangaale! Aweebwe ku zaabu ow'e Buwarabu. Abantu bamusabirenga bulijjo, basiibenga nga bamusabira omukisa gwa Katonda. Ensi ebeere mu kyengera, obusozi bujjule ebibala, bibeere bingi ng'eby'omu Lebanooni. Ebibuga bijjule abantu, ng'ettale bwe lijjula omuddo. Erinnya lye lijjukirwenga bulijjo, libe lya lubeerera, ng'enjuba. Abantu bonna beeyagalizenga omukisa ng'ogugwe. Amawanga gonna gamuyitenga wa mukisa. Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe yekka akola ebyamagero. Erinnya lye eryekitiibwa litenderezebwenga emirembe gyonna. Ensi zonna zijjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina. Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yesse kukomye awo. Ddala Mukama akolera Yisirayeli ebirungi, n'ab'emitima emirongoofu. Naye nze nali nnaatera okuterebuka, okukkiriza kwange nga kuseebengerera. Abeekulumbaza nabakwatirwa obuggya, nga ndaba ababi bwe bali obulungi. Bo tebalina kibaluma, balamu era ba maanyi. Tebabonaabona ng'abalala, tebalumwa ng'abalala. Kyebava beeyambika amalala ng'omukuufu, ne beebunya obukambwe ng'ekyambalo. Bagezze ne bakanuka amaaso, emitima gibajjudde obugwenyufu. Baduula, era boogera bakudaala, beewaana ne batiisatiisa abalala. Boogera ebinyooma Katonda ali mu ggulu, banyooma n'abantu be ku nsi. Abantu kyebava bakyukira gye bali, bye boogera ne babikkiriza. Ne bagamba nti: “Katonda alimanya atya? Ddala Atenkanika amanya?” Ababi bwe batyo bwe baba. Bali bulungi bulijjo, bongera kugaggawala. Mazima nteganidde bwereere okwekuuma obutayonoonanga? Mbonaabona okuzibya obudde ne mbonerezebwa buli nkya. Singa nayogera bwe ntyo, sandikoze ng'omu ku babo. Nagezaako ndowooze ntegeere ekyo, ne nnemererwa ne nsirika. Okutuusa lwe nayingirako mu kifo kya Katonda ekitukuvu, ne ntegeera enkomerero yaabwe. Ddala obateeka awali obuseerezi, bagwe bazikirire. Tebalwa kuggwaawo, ne bazikirizibwa entiisa. Bayita ng'ekirooto ky'oku makya: ggwe Mukama w'oligolokokera, nga tewakyali gw'olabako. Bwe nali ndowoolereza, ne nnumwa ne nennyamira. Nali musiru ng'ensolo, nga sikutegeera ggwe. Naye ndi wamu naawe bulijjo, era ggwe onkutte ku mukono. Kaakano nnuŋŋamya ompabule, onnyingize mu kitiibwa oluvannyuma. Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? Kiki ku nsi kye njagala okuggyako ggwe? Nzenna ne bwe mba n'obunafu, mu nze Katonda ge maanyi. Ye ye wange emirembe gyonna. Abakwewala balitokomoka, olizikiriza abatali beesigwa abakulekawo. Naye nze kirungi nsemberere Katonda, ye gwe mba nfuula ekiddukiro kyange ndyoke mmanyisenga byonna by'akola. Ayi Katonda, lwaki watusuula ennaku zonna? Endiga ez'omu ddundiro lyo olizisunguwalira butamala? Jjukira abantu be weefunira okuva edda, be wanunula babe eggwanga eriryo ddala. Jjukira Olusozi Siyooni kwe wabeeranga. Lambula ebifo ebisigadde nga matongo. Mu kifo ekitukuvu, omulabe yazikiriza byonna. Abalabe bo baawogganira mu kifo mw'otukuŋŋaanyiza, ne basimbamu bbendera zaabwe, okulaga bwe bawangudde. Baafaanana ng'abakutte embazzi okutema emiti mu kibira. Baamenya ebibajje byonna ne babyasisa embazzi n'ennyondo. Ekifo kyo ekitukuvu baakikumako omuliro, Essinzizo lyo baalinyooma ne balizikiriza. Baateesa okutuzikiririza ddala, ne bookya ebifo ebitukuvu byonna ebiri mu ggwanga. Obubonero bwaffe obutukuvu tebukyaliwo tetukyalina na mulanzi. Era mu ffe tewali amanyi embeera eriwo lw'erikoma. Ayi Mukama, abalabe balituusa wa okukuvuma? Erinnya lyo balirivvoola ennaku zonna? Lwaki ogaana okuba ne ky'okolawo? Lwaki emikono gyo ogizingira ku kifuba kyo? Naye obadde Kabaka waffe okuva edda, ayi Katonda. Ggwe Mulokozi waffe bulijjo. Ennyanja wagigabanyaamu wabiri n'amaanyi go, wamulungula emitwe gy'agasolo mu mazzi. Wabetenta emitwe gya Lukwata, ekikulejje ky'omu nnyanja, n'okigabula ab'omu ddungu. Waggulira ensulo n'obugga, ate n'okaza emigga eminene. Emisana n'ekiro bibyo, wateeka enjuba n'omwezi mu bifo byabyo. Wateekawo ensalo zonna ez'ensi, n'oteekawo ebiseera eby'ekyeya n'eby'obutiti. Naye jjukira ayi Mukama, abalabe bwe bakuvuma, n'ababi bwe bakunyooma. Abantu bo abateeyinza, tobalekera balabe baabwe bakambwe. Obulamu bw'abanaku bo tobwerabira ennaku zonna. Jjukira endagaano gye wakola naffe, kubanga eby'obukambwe bikolebwa buli awakutte ekizikiza mu nsi eno. Abayigganyizibwa tobaleka kuswazibwa, abaavu n'abanaku bakutenderezenga. Ayi Katonda yanguwa olwanirire ekitiibwa kyo, jjukira ng'ababi bwe bakuvuma olunaku lwonna. Teweerabira okuboggola kw'abalabe bo, n'okuleekaana kw'abakuwalanya obutasalako. Tukwebaza ayi Katonda, tukwebaza kubanga oli kumpi nga twogera ku by'okola ebyewuunyisa. Waŋŋamba nti: “Mu kiseera kye ndigera, ndisala omusango mu mazima. Ensi bw'eyuuguuma n'ebigirimu byonna, nze ŋŋumya empagi zaayo. Ŋŋamba abeewaana nti: ‘Mulekenga okwewaana.’ N'ababi nti: ‘Mulemenga okwekulumbaza. Mulekere awo okwewanika, n'okwogera nga muduuluka.’ ” Okugulumizibwa tekuva buvanjuba, wadde ebugwanjuba oba wadde mu ddungu. Naye Katonda ye mulamuzi atoowaza omu, n'agulumiza omulala. Mukama akutte mu ngalo ze ekikopo ky'omwenge omuka ogw'obusungu bwe. Alikifuka, ababi bonna ne bakinywa, ne bakimalamu. Naye nze siirekengayo kwogera ku Katonda wa Yakobo, siirekengayo kuyimba okumutendereza. Alizikiriza obuyinza bw'ababi bwonna, naye obw'abalungi bulyeyongera obungi. Katonda amanyiddwa mu nsi ya Yuda erinnya lye kkulu mu Yisirayeli. Ekisulo kye kiri mu Yerusaalemu, abeera ku Lusozi Siyooni. Eyo gye yamenyera obusaale bw'omulabe, n'engabo wamu n'ebitala, n'ebyokulwanyisa ebirala. Oli waakitiibwa, ayi Katonda, ng'ova mu nsozi gye wawangulira abalabe bo. Abalwanyi baabwe abazira, byonna bye baalina binyagiddwa, kati beebase obutakyassa. Amaanyi gaabwe n'obuzira tebyabagasa. Bwe wakangisaamu oti, ayi Katonda wa Yakobo, embalaasi n'abazeebagala baagwa eri ne balambaala! Naye ggwe oli wa ntiisa! Aluwa akutambaala ng'omaze okusunguwala? Wamanyisa ensala y'omusango evudde mu ggulu. Ensi n'etya n'esirika, ng'osituse okulaga bw'ogusaze okulokola abanyigirizibwa ku nsi. Ddala obusungu bw'abantu bwongera kukuweesa kitiibwa. Abaliwona entalo balikutendereza nga bajaguza. Mukama Katonda wammwe mumuwe bye mumusuubizza. Bonna abamwetoolodde bamuleetere ebirabo, oyo agwanira okutiibwa. Atoowaza abalangira abakulu, n'atiisa bakabaka mu buli ggwanga. Nkaaba ne ntemera Katonda omulanga, nkaaba, naye n'ampulira. Nga ndi mu kabi nsaba Mukama, nsitula emikono gyange ekiro kyonna ne gitaddirira, naye ne mbulwa ekikubagizo. Bwe ndowooza ku Katonda ne neeraliikirira. Bwe ndoowolereza, amaanyi ne gakendeera. Taŋŋanya kusumagirako ekiro kyonna, nkoowa nnyo, n'okwogera kulema. Ndowooza ku nnaku eziyise, ku myaka egy'ebiseera eby'edda. Ndowooza mu kiro kyonna, mu mutima ne nneebuuza nti: “Mukama aboolera ddala ennaku zonna? Era taliddayo kutusanyukira? Takyasaasira n'akatono? Ne bye yasuubiza bikomye awo? Katonda eby'okusaasira abyerabidde? Obusungu bumumazeeko ekisa?” Era ne ŋŋamba nti: “Nga zinsanze? Katonda amaanyi ge gakyuseeko!” Nzijukira ebikolwa bya Mukama ebyamagero bye yakolanga edda, ndowoolereza bye yakola byonna, ne mmanya bwe biri ebikulu. Ayi Katonda, by'okola bitukuvu, oli mukulu, ani alikwenkana? Ggwe Katonda akola ebyamagero, walaga amaanyi go mu mawanga. Wanunula abantu bo n'amaanyi, bazzukulu ba Yakobo ne Yosefu. Ayi Katonda, amazzi gaakutya bwe gaakulaba, wakankanya obuziba bw'ennyanja. Ebire byayiwa amazzi, eggulu lyabwatuka, ebimyanso ne bibuna wonna! Eddoboozi ly'okubwatuka kwo, ne liba mu kikuŋŋunta, okumyansa ne kumulisa byonna. Ensi yakankana, yayuuguuma! Watema ekkubo mu nnyanja, n'empenda zo mu mazzi amangi. Naye mw'oyise temwalabika. Wakulembera ababo ng'endiga zo, nga balabirirwa Musa ne Arooni. Mmwe bantu bange muwulire bye njigiriza. Mutege amatu njogere. Nja kwogera mu lugero nja kwatula ebikusike eby'edda, bye twamanya, bye twawulira, ebyatubuulirwa bajjajjaffe. Tetulibikisa baana ab'omulembe oguliddirira. Tulibabuulira obuyinza bwa Mukama ne bye yakola ebikulu, awamu n'ebyamagero. Yawa ebiragiro bazzukulu ba Yakobo, mu Yisirayeli amateeka yagassaamu. Kwe kukuutira bajjajjaffe bagayigirize abazzukulu. Gamanyibwe ab'emirembe egiriddirira, nabo bagamanyise be bazaala. Era bwe batyo na bano balyoke beesigenga Katonda, baleme kwerabira bikolwa bya Mukama, naye bakwatenga amateeka ge. Baleme kuba nga bajjajjaabwe abaakakanyala ne bajeema. Abataanywera mu kwesiganga Katonda, era nga si beesigwa gy'ali. Aba Efurayimu nga balina obusaale n'emitego badda emabega ku lunaku lw'olutalo. Endagaano ya Katonda baagimenya, ne bajeemera amateeka ge. Bye yali akoze tebaabijjukira, ne bye yabalaga ebyamagero. Mu maaso ga bajjajjaabwe we yakolera ebyewuunyo, mu nsi y'e Misiri, mu kisenyi ky'e Zowani. Yayawuza mu nnyanja, ne bagiyitamu wakati. Yayimiriza amazzi, ne gafaanana entuumu. Yabakulembera na kire emisana, ate ekiro kyonna na mumuli gwa muliro. Yayasa amayinja mu ddungu, n'abanywesa amazzi agava ebuziba. Olwazi yaluggyamu ensulo z'amazzi, amazzi ne gakulukuta ng'emigga. Naye ne bongera okwonoona, mu ddungu ne bajeemera Atenkanika. Ne bakema Mukama mu bugenderevu, nga bamusaba ebyokulya bye baayagala. Ne boogera obubi ku Katonda: baagamba nti: “Katonda ayinza okuteekateeka emmere mu ddungu? Weewaawo yakuba olwazi ne luvaamu amazzi. Gaayiika ne gafuuka emigga egy'amaanyi. Era ayinza abantu be okubawa ennyama n'emmere kaakati?” Mukama bwe yawulira ebyo, yasunguwala, n'akuma ku ba Yakobo omuliro, ku Bayisirayeli, obusungu bwe ne bunyooka, kubanga Katonda tebaamukkiriza, era tebeesiga nti ye abalokola! Kyokka yagamba ebire mu bbanga, yalagira eggulu lyeggulewo, n'abawa emmere eyalivaamu: n'atonnyesa mannu gye banaalya. Awo abantu ne balya ku mmere ey'abamalayika, gye yabawa ne bakkuta. Embuyaga eva ebuvanjuba yagikunsa, era amaanyi ge ne galeeta eyo eva mu bukiikaddyo. N'abaweereza ennyama eyaze ng'enfuufu: ze nnyonyi ennyingi ng'omusenyu gw'ennyanja. Ne zigwa we basiisidde, okwetooloola ensiisira zaabwe. Awo abantu ne balya ne bakkuta, yabawa kye baali beegomba. Naye baali bakyalya, ng'era bakyalina amaddu, Katonda n'abasunguwalira: n'abattamu abo abasinga okuba ab'amaanyi. Yisirayeli n'afiirwa abavubuka embulakalevu. Newaakubadde ebyo baabiraba, era tebaalekayo kwonoona. Wadde yabalaga ebyamagero, beerema, tebaamukkiriza. Naye kwe kubeerawo ng'enfuufu, era obulamu bwabwe ne babumala mu kutya. Buli lwe yabattangamu abantu, abalamu ne beenenya, ne bamusemberera. Ne bajjukira nti Katonda ye abakuuma, era nti Katonda Atenkanika Ye Mulokozi waabwe. Mu bigambo baamutendanga naye nga bulimba bwereere. Tebaabanga beesigwa gy'ali: endagaano ye tebaagikuumanga. Wabula Katonda ye, yabakwatirwanga kisa, n'abasonyiwa ebisobyo. Era teyabasaanyaawo. Emirundi mingi era ng'obusungu bwe abufuga, ne butabaggweerako bwonna. Yajjukira nti bantu abalifa, era mbuyaga ekunta n'etedda. Emirundi mingi gye baamujeemera mu ddungu, ne bamunyiiriza mu lukoola. Nga bamugeza lutata, ne banyiiza Omutuukirivu wa Yisirayeli. Beerabira obuyinza bwe, n'olunaku lwe yabawonya omulabe, bwe yakola ebyewuunyo bye e Misiri n'ebyamagero mu kisenyi ky'e Zowani. Emigga yagifuula omusaayi, Abamisiri ne babulwa amazzi ge banywa. Yabasindikira ebibinja by'ensowera ezaabaluma, n'ebikere ebyabazikiriza. Bye balimye yabigabira obuwuka, era n'enzige ne zibyeriira. Omuzira gwakuba emizabbibu gyabwe, n'emiti emitiini tegwagitaliza. Ente zaabwe yazitta n'omuzira, endiga ne zikubwa laddu. Yabaleetera okunakuwala, ng'abayiwako obusungu bwe n'ekiruyi, bye yabatumira abazikirize. Teyaziyiza busungu bwe, wadde okusaasira obulamu bwabwe, wabula yabassa kawumpuli. Yatta abaggulanda bonna mu Misiri, abasinga amaanyi mu maka ga Haamu. Olwo n'akulembera abantu be ng'endiga ze, n'abaluŋŋamya ng'eggana lye abayise mu ddungu. N'abakulembera mirembe ne batatya. Naye abalabe baabwe ne bamiribwa ennyanja. N'atuusa abantu be mu nsi ye entukuvu, ku lusozi yennyini lwe yawangula. Abantu be olwajja, ensi n'agigobamu abalimu, n'agiwa ebika bya Yisirayeli, n'ennyumba za bali, n'azigabira abazze. Naye ne bageza Katonda Atenkanika, ne batawulira biragiro bye. Wabula ne badda emabega, ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe, ne beekyusiza mu kiti ng'embazzi. Baamusunguwaza olw'amasabo gaabwe ag'oku nsozi, ne bamunyiiza nnyo olw'ebifaananyi ebyole. Katonda bwe yalaba ebyo n'asunguwala, n'atamwa nnyo abantu ba Yisirayeli. N'ava mu weema ye mu Siilo gye yabeerangamu ng'ali mu bo. Akabonero akategeeza obuyinza bwe, n'akaleka okunyagibwa abalabe. Yasunguwalira abantu be, n'abaleka battibwe n'ekitala. Omuliro ne gutta abavubuka baabwe, bawala baabwe ne babulwa abawasa. Bakabona baabwe battibwa n'ebitala, bannamwandu baabwe tebaakaaba. Olwo nno Mukama n'aba ng'azuukuka mu tulo, era ng'omuzira akyamuddwa omwenge. N'agoba abalabe be ne badda amabega, ne bakwatibwa ensonyi ezitalikoma Kyokka n'aboola bazzukulu ba Yosefu, n'atalonda kika kya Efurayimu. Wabula ekika kya Yuda kye yalonda, n'Olusozi Siyooni lw'ayagala. N'azimbako ekifo kye ekitukuvu, ekiri ng'ensozi obugulumivu. Ne kinywera ggulugulu ng'ensi, gye yanywereza ddala ennaku zonna. N'alonda omuweereza we Dawudi, gwe yaggya mu malundiro gye yali ng'alabirira endiga eziyonsa kati alabirire aba Yakobo, Abayisirayeli abantu ba Mukama. Yabalabirira mu mwoyo omulungi, ng'abafuga n'amagezi. Ayi Katonda, ab'amawanga amalala balumbye ensi yo, ne boonoona Essinzizo lyo ettukuvu, Yerusaalemu bakirese matongo. Emirambo gy'abaweereza bo bagigabulidde ensega zigirye. Egy'abeesigwa bo, bagiwadde nsolo okugirya. Baayiwa omusaayi gw'abantu bo, ng'abayiwa amazzi, ne wataba wa kubaziika! Tuvumibwa abatwetoolodde, batujerega nga beesekera. Ayi Mukama, olituusa wa? Olisunguwalira ennaku zonna? Obusungu bwo bulibuubuuka ng'omuliro? Sunguwalira abo ab'amawanga agatakumanyi, n'ab'omu bwakabaka obutakusinza. Batta abantu ba Yakobo, ne bazikiriza ekifo kyabwe. Totubonereza lwa bibi bya bajjajjaffe. Yanguwa okutukwatirwa ekisa, kubanga tufeebezebwa nnyo. Tuyambe ayi Katonda, tulokole, olw'ekitiibwa kyo tuwonye, era tusonyiwe ebibi byaffe. Lwaki ab'amawanga amalala banditubuuzizza nti: “Katonda wammwe ali ludda wa?” Tulage bw'obonereza amawanga olw'omusaayi gw'abaweereza bo ogwayiibwa. Wuliriza okusinda kw'abasibe. Mu buyinza bwo obungi owonye ababadde ab'okutta. Ayi Mukama, baliraanwa baffe baddize emirundi musanvu ebivumo bye baatuvuma. Olwo ffe ababo, endiga z'omu kisibo kyo, tunaakwebazanga bulijjo, tukutenderezenga ennaku zonna. Ayi Omusumba alunda Yisirayeli, wulira, ggwe akulembera Yosefu ng'eggana ly'endiga, ggwe atuula wakati wa bakerubi. Weeyoleke Efurayimu ne Benyamiini ne Manasse. Situka n'amaanyi go ojje otulokole. Ggwe tuzze mu nteeko, ayi Katonda, tulage ekisa kyo, otulokole. Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, olituusa wa okusunguwalira okwegayirira kw'abantu bo? Otugabula maziga ng'emmere yaffe, era g'otuwa mu bungi tunywe. Otuleka ne tuyombagana ne baliraanwa baffe, abalabe baffe ne beesekera. Ggwe tuzze mu nteeko, ayi Katonda Nnannyinimagye, tulage ekisa tulokoke. Ggwe waggya omuzabbibu e Misiri, ab'amawanga amalala n'obagoba mu nsi yaabwe, n'ogusimbamu, ne gubuna ensi eyo. Wagulimirira, ne gusimba nnyo emirandira. Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi, amatabi gaagwo ne gabikka emivule emiwanvu. Gaalanda okutuuka ku nnyanja, n'okutuuka ku Mugga Ewufuraate. Wamenyera ki enkomera ezigwetoolodde? Kaakati bonna abayitawo beenogera ebibala byagwo! Embizzi ez'omu ttale zigulinnyirira, n'ebisolo byonna eby'omu nsiko bigwonoona. Ayi Katonda Nnannyinimagye, kyuka otunuleko wansi ng'osinziira mu ggulu, olabe era oggyire omuzabbibu gwo ogwo, ggwe wennyini gwe wasimba, n'ogukuza nga gwa maanyi. Abalabe bagwokezza omuliro ne bagutemawo. Batunuulize bukambwe, obazikirize. Kuuma otaase abantu be walonda babe babo, eggwanga lye wafuula ery'amaanyi. Tetukyaddamu kukuvaako, tukuume nga tuli balamu, olwo tunaakutenderezanga. Ggwe tuzze mu nteeko, ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, tulage ekisa kyo tulokoke. Katonda atuwa amaanyi mumuyimbire nnyo, muyimbire Katonda wa Yakobo nga musanyuka. Mukoleeze oluyimba, mukube ensaasi, mukube ennanga ennungi n'amadinda. Mufuuwe eŋŋombe ng'omwezi kye gujje guboneke. Mufuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw'embaga yaffe. Eryo lye tteeka mu Yisirayeli, kiragiro kya Katonda wa Yakobo. Yakiragira Yosefu, bwe yalumba ensi y'e Misiri. Nawulira eddoboozi lye simanyi nti: “Nabatikkula omugugu, ne mbawonya okusitula obusero. Bwe mwali mu buyinike obungi, mwankoowoola ne mbawonya. Nabaddamu nga nneekwese mu kubwatuka kw'eggulu. Nabagereza ku mazzi g'e Meriba. “Abantu bange, muwulire mbabuulirira. Yisirayeli, singa okkiriza n'ompulira! Mu mmwe temuubenga na mulala gwe musinza wabula nze Katonda. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Mwasamye akamwa kammwe, nja kukajjuza. “Naye abantu bange tebampulira, Yisirayeli teyanneewa. Nange nabaleka gye baalemera, bagoberere bye baayagala. Singa nno abantu bange kale baawuliriza kye ŋŋamba! Singa Yisirayeli akola bye ndagira! Nandyanguye okubawonya abalabe, n'okuwangula ababawalanya. “Nandijeemuludde abankyawa, ne batabonerezebwa ennaku zonna. Nandibagabudde mmwe eŋŋaano ennungi n'omubisi gw'enjuki ogw'omu ttale.” Katonda ye akulira olukiiko olw'omu ggulu, n'asala emisango mu balubaale nti: “Mulituusa wa okusala emisango awatali mazima, n'okwekubiira ku ludda lw'ababi? Musalirenga abaavu ne bamulekwa baweebwenga ebyabwe ebibasaanidde. Mubeerenga ba mazima eri abeetaaga n'abateeyamba. Mubawonyenga obuyinza bw'ababi. “Temuliiko kye mumanyi, temutegeera mmwe. Mu nzikiza mwe mutambulira, mumazeewo obwenkanya mu nsi. Nagamba nti: ‘Muli balubaale mmwe, mwenna muli baana ba Atenkanika.’ Naye mulifa ng'abantu, muggweewo ng'abantu, muggweewo ng'abalangira abalala.” Jjangu ayi Katonda, osalire ensi omusango, kubanga amawanga gonna gago. Ayi Katonda tosirika busirisi, wadde okubeera awo, ayi Katonda, nga toliiko ky'ofaayo. Kubanga abalabe bo baabano beediimye, n'abakukyawa bajagaladde. Basalira abantu bo enkwe. Bateesa okukola akabi ku bantu bo b'okuuma. Bagamba nti: “Mujje, tubazikirize, balemenga okuba eggwanga, erinnya Yisirayeli lyerabirwe!” Bateesa ne bakkaanya ne balagaana okukukolako akabi: Aba Edomu n'aba Yisimayeli, ab'e Mowaabu n'Abakaguri, ab'e Gabali ne Ammoni, ab'e Amaleki, Filistiya ne Tiiro. Era ne Assiriya yeegasse nabo, bayambe abazzukulu ba Looti. Ggwe bakole kye wakola Abamidiyaani ne Sisera ne Yabini ku Mugga Kisoni, abaazikirizibwa mu Endori ne bafuuka ng'obusa ku ttaka. Abakungu baabwe obafuule nga Horebu ne Zeebu. Abalangira baabwe babe nga Zeba ne Zalumunna, abaagamba nti: “Twetwalire ensi ya Katonda ebeere yaffe.” Ayi Katonda wange, bafuule ng'enfuufu ey'akazimu, ng'ebisasiro embuyaga by'etwala. Ng'omuliro bwe gwokya ekibira, n'ennimi zaagwo nga bwe zookya ensozi, bagobaganye bw'otyo ne kibuyaga wo, obatiise n'embuyaga zo ez'amaanyi. Ayi Mukama, ggwe bajjuze okwebwalabwala, obakkirizise obuyinza bwo. Bakwatibwenga ensonyi, era batyenga bulijjo, bazikirire nga baswadde. Balyoke bamanye nti ggwe Mukama wekka, Omufuzi w'ensi zonna Atenkanika. W'obeera nga walungi, ayi Mukama Nnannyinimagye! Neegomba nnyo okulaba empya za Mukama. Nzenna olw'essanyu, nnyimbira Katonda Nnannyinibulamu. Weewaawo enkazaluggya zeezimbira ebisu, obutaayi nabwo bwekolera we bubiikira amagi gaabwo, okumpi n'alutaari zo, ayi Mukama Nnannyinimagye, Kabaka wange era Katonda wange. Ba mukisa abo ababeera mu nnyumba yo, nga bayimba okukutendereza. Ba mukisa abo abeesiga ggwe, amaanyi be gaba mu ggwe, abalumirwa okulamaga e Siyooni. Nga bayita mu Kiwonvu Baka ekikalu, bakifuula ekivulula amazzi. Enkuba esooka ekijjuza ebidiba. Bagenda nga beeyongera amaanyi, okutuusa lwe balirabika mu maaso ga Katonda mu Siyooni. Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, wulira okwegayirira kwange. Tega okutu ayi Katonda wa Yakobo. Ayi Mukama, atutaasa, tunuulira omusiige wo. Olunaku olumu mu mpya zo, lusinga olukumi ze mmala awalala. Nandisiimye okuyimirira ku mulyango ogw'ennyumba ya Katonda, okusinga okubeeranga mu mayumba g'aboonoonyi, kubanga Mukama Katonda ye Kabaka oweekitiibwa atutaasa. Abeegendereza taliiko kirungi ky'abamma. Ayi Mukama Nnannyinimagye, omuntu akwesiga, nga wa mukisa! Ayi Mukama, wayagala ensi yo, n'ozzaawo emikisa gya Yakobo. Waggyawo ebibi by'abantu bo, ensobi zaabwe n'ozisonyiwa zonna. Wakomya okubasunguwalira, n'okubakwatirwa ekiruyi. Ayi Katonda Omulokozi waffe, ggwe otuzze mu nteeko, okomye okutunyiigira. Onootusunguwaliranga ennaku zonna? Obusungu bwo tebulikoma? Ddamu okutwongera amaanyi, ffe ababo tukusanyukirenga ggwe. Tulage ekisa kyo ayi Mukama, otulokole. Ka mpulire Katonda Mukama ky'agamba, kubanga asuubiza mirembe ababe b'ayagala, bwe bataddayo mu busirusiru bwabwe. Ddala yeeteeseteese okulokola abo abamutya, ekitiibwa kiryoke kibeerenga mu nsi yaffe. Ekisa n'obwesigwa binaasisinkana, obutuukirivu n'emirembe binaanywegeragana. Obwesigwa bunaameruka mu nsi, obutuukirivu bunaasinziira mu ggulu ne butunula ku nsi. Ddala Mukama anaatuwa ebirungi, era ensi yaffe eneeba mu kyengera kingi. Obutuukirivu bunaakulembera Mukama, ne bumwerulira ekkubo. Ayi Mukama, tega okutu kwo onziremu, kubanga ndi mwavu ateeyamba. Kuuma obulamu bwange, ku ggwe kwe nnyweredde. Ayi ggwe Katonda wange, nze omuweereza wo akwesiga, ndokola! Nkwatirwa ekisa, ayi Mukama, nkukoowoola olunaku lwonna. Nze omuweereza wo nsanyusa, ayi Mukama, omwoyo gwange nguyimusa gy'oli. Ayi Mukama, oli mulungi, osonyiwa, oli wa kisa kingi eri buli akukoowoola. Ayi Mukama, wulira kye nsaba, wuliriza okwegayirira kwange. Mu kiseera eky'obuyinike nkukoowoola, kubanga onziramu. Ggwe Katonda wekka, teri mulala yenkana nga ggwe, ayi Mukama, ggwe bye wakola teri mulala yali abikoze. Amawanga gonna ge wakola galijja ne gakuvuunamira, era galikugulumiza. Oli mukulu, okola ebyamagero, ggwe wekka ggwe Katonda. Njigiriza ekkubo ly'oyagala nkwate, ayi Mukama, nkuwulirenga. Luŋŋamya omutima gwange nkussengamu ekitiibwa. Ayi Mukama Katonda wange, nnaakutenderezanga n'omutima gwange gwonna, nnaakugulumizanga emirembe gyonna, kubanga onkwatirwa ekisa kingi, wamponya obunnya bw'emagombe. Abeekulumbaza bansitukiddemu, ayi Mukama, ekibiina ky'abantu abatakuliiko kyagala kunzita. Naye ggwe ayi Mukama oli Katonda ow'ekisa era omusaasizi, alwawo okusunguwala, ajjudde ekisa n'obwesigwa. Kyukira gye ndi onkwatirwe ekisa, nze omuweereza wo ompe amaanyi, lokola omwana w'omuzaana wo. Mpa akabonero akalaga bw'oli omulungi, abankyawa baswale nga balaba bw'onnyambye era bw'onsanyusizza. Mukama yazimba ekibuga kye ku lusozi olutukuvu. Ayagala ekibuga kye Siyooni okusinga ebifo byonna ebya Yakobo. Ggwe ekibuga kya Katonda, oyogerwako ebyekitiibwa bino: “Mu mawanga agammanyi, ndibaliramu Misiri ne Babilooniya. Ab'e Filistiya, Tiiro ne Etiyopiya ndibabalira mu bazaaliranwa b'e Siyooni.” Siyooni kiryogerwako nti ab'eggwanga gundi ne gundi mu kyo bazaaliranwa. Era yennyini Atenkanika alikinyweza. Mukama aliwandiika abantu mu mawanga, n'ababala okuba abazaaliranwa b'e Siyooni. Abayimbi n'abazinyi bagamba nti: “Emikisa gyaffe gisibuka mu ggwe.” Ayi Mukama Katonda Omulokozi wange, nkaaba olunaku lwonna, n'ekiro nzija gy'oli. Wulira kye nsaba, wulira bwe nkaaba! Obuyinike nnina bungi, era nsemberedde emagombe. Mbalirwa mu bakka mu bunnya, ndi awo sirina buyambi. Ndekeddwa nzekka mu bafu, ndi ng'abattibwa, abagalamira mu ntaana, b'otokyajjukira era b'otokyayamba. Ontadde mu bunnya obusse ennyo, mu bifo eby'ekizikiza, eby'ebuziba. Obusungu bwo bunnyigiriza nnyo, amayengo gaabwo gambonyaabonya. Onjawukanyizza n'ab'emikwano, onfudde kyenyinyalwa gye bali. Nsibiddwa mwe siyinza kuva. Amaaso gankambira olw'okunakuwala. Buli lunaku nkowoola ggwe, ayi Mukama, ne nkugololera emikono. Abafu b'olikolera ebyamagero? Be balivaayo ne bakutendereza? Ekisa kyo kiritenderwa mu ntaana, n'obwesigwa bwo mu kifo eky'okuzikirira? Ebyamagero byo birimanyirwa mu kizikiza, n'obulungi bwo mu nsi y'abeerabirwa? Ayi Mukama, nkukoowoola, era buli olukya nkusaba. Lwaki Mukama onsuulirira? Lwaki kaakano onneekweka? Mbonaabona ne nkaaba, okuviira ddala mu buto, ontiisa ne neeraliikirira. Obusungu bwo bummalawo, onzikiriza n'ebintiisa. Olunaku lwonna binneetooloola ng'engezi ezikulukuta, bintaayiza enjuyi zonna. Abammanyi n'abanjagala onjawukanyizza nabo. Gye ndi nayo yokka ye nzikiza. Nnaayimbanga ku kisa kyo, ayi Mukama ennaku zonna. Obwesigwa bwo nnaabutenderezanga emirembe gyonna. Ekisa kyo kya mirembe gyonna, obwesigwa bwo tebuggwaawo, buli ng'eggulu obugumu. Wagamba nti: “Nkoze endagaano ne gwe nnonze. Omuweereza wange Dawudi mmusuubizza nti: ‘Ezzadde lyo ndirikuuma ennaku zonna, n'entebe yo ey'obwakabaka ndiginyweza emirembe gyonna.’ ” Mu ggulu abatukuvu gye bakuŋŋaanidde banaatenderezanga ebyamagero byo, n'obwesigwa bwo, ayi Mukama. Mu ggulu teri n'omu akwenkana ggwe, ayi Mukama. Ani mu b'omu ggulu ali nga ggwe? Otiibwa mu lukiiko lw'abatukuvu, otiibwa nnyo mu bakwetoolodde. Ayi Mukama Katonda Nnannyinimagye, teri alina buyinza nga ggwe, ayi Mukama. Oli mwesigwa mu byonna. Ggwe ofuga obusungu bw'ennyanja, okkakkanya amayengo agatumbiira. Ekikulejje Rahabu wakibetenta n'okitta. Abalabe bo wabasaasaanya n'obuyinza bwo obw'amaanyi. Eggulu liryo, n'ensi yiyo, n'ebibirimu ggwe wabikola. Watonda obukiikakkono n'obukiikaddyo. Ensozi Tabori ne Herumooni zikuyimbira nga zisanyuka. Oli wa buyinza nnyo ggwe, oli nnantawangulwa ow'amaanyi. Entebe y'obwakabaka bwo eteekeddwa mu butuukirivu ne mu mazima. Okolera ku kisa na ku bwesigwa. Ba mukisa abakuyimbira nga basanyuka, ne bagabana ku ssanyu lyo, ayi Mukama. Olunaku lwonna ne basanyuka ku lulwo, ne batendereza obulungi bwo, kubanga obawa ekitiibwa era n'amaanyi. Olw'ekisa kyo otuwa ffe obuwanguzi. Ayi Mukama, ggwe walonda atutaasa, ggwe Omutuukirivu wa Yisirayeli, ggwe watuwa kabaka waffe. Mu biro biri eby'edda abaweereza bo abeesigwa wabalabikira n'ogamba nti: “Ow'amaanyi gwe nnyambye. Ngulumizza oyo eyalondebwa mu bantu. Omuweereza wange Dawudi mmuwadde obwakabaka, nga mmufukako omuzigo omutukuvu. Amaanyi gange ganaabanga naye, obuyinza bwange bunaamuwanga amaanyi. Abalabe be tebaamujoogenga, talitoowazibwa babi. Ndibetenta ng'alaba abalwanagana naye, nditta abamukyawa. Obwesigwa bwange n'ekisa kyange binaabeeranga naye. Ndimuwa okuwangula. Obwakabaka bwe ndibugaziya okuva ku nnyanja Eyaawakati, okutuuka ku Mugga Ewufuraate. Anaŋŋambanga nti: ‘Ggwe kitange era Katonda wange, ggwe ontaasa era ggwe ondokola.’ Ndimufuula asooka mu bonna, asinga bakabaka bonna ku nsi. Nnaabeeranga wa kisa gy'ali bulijjo, ndinyweza endagaano yange naye. Ezzadde lye ndiriwangaaza ennaku zonna, mu bazzukulu be temulibula kabaka. “Bazzukulu be bwe balijeemera amateeka gange, ne bava ku bye mbalagira okukola, bwe balinyooma bye nateekawo, ne bamenya ebiragiro byange, ndibakuba olw'ensobi zaabwe, ndibabonereza olw'ebibi byabwe. Wabula ndisigala nkyamukwatirwa ekisa, ndisigala ndi mwesigwa gy'ali. Sirimenya ndagaano yange naye, sirijjulula ku bye mmusuubizza. “Nneerayirira namala: Dawudi sirimulimba. Ezzadde lye liribeerera ennaku zonna, obwakabaka bwe mbukuumenga ng'enjuba bwe ngibeesaawo. Buliba ng'omwezi ku ggulu bwe guli: kalabaalaba atakoowa kuboneka.” Naye ogobye era osudde omusiige wo, kaakano omusunguwalidde. Endagaano yo n'omuweereza wo ogimenyeewo, engule ye ogisudde mu nfuufu. Enkomera z'ekibuga kye ozimenye, ebigo bye obifudde matongo. Abayitawo bonna beenyagira ebibye, baliraanwa be bamusekerera. Abalabe be obawadde okuwangula, abatamwagala ne basanyuka. Ebyokulwanyisa bye obifudde bitagasa, mu lutalo omulese teyeeyinza. Ddamula ogumuggyeeko, osudde wansi entebe ye kw'afugira. Omukaddiyizza nga muto, era n'omuswazaswaza. Ayi Mukama, olituusa wa? Olyekwekera ennaku zonna? N'obusungu bwo bulikoma ddi okubuubuuka ng'omuliro? Ayi Mukama, jjukira obulamu bwange bwe buli obumpi. Jjukira ng'abatonde bonna enkomerero yaabwe kufa. Ani omulamu atalifa? Ani alyewonya amagombe? Ayi Mukama, ekisa kyo kiri ludda wa eky'edda, ggwe omwesigwa kye wasuubiza Dawudi? Ayi Mukama, jjukira omuddu wo nga bwe nvumibwa. Ngumiikiriza ebivumo by'abantu. Ayi Mukama, abalabe bo bavuma omusiige wo, buli w'alaga bamuvuma. Mukama atenderezebwenga bulijjo! Amiina era Amiina. Ayi Mukama, okuva edda n'edda ggwe maka gaffe. Ng'ensozi tonnazitonda, era nga tonnabumba nsi n'ebyamu, ggwe Katonda emirembe n'emirembe. Abantu obazzaayo mu nfuufu, n'obagamba nti: “Muddeeyo gye mwasibuka.” Emyaka olukumi ku ggwe giri ng'olunaku olwa jjo oluyise, oba ng'ekisisimuka ekimu mu kiro. Otukuluggusa nga mukoka, tuyita buyisi nga kirooto. Tuli ng'omuddo ogumeruka ku makya, ne gukula ne gumulisa ebimuli, we buzibira nga guwotose gukaze. Ddala obusungu bwo butumalawo, bw'onyiiga ne tweraliikirira! Ebyonoono byaffe obitadde mu maaso go, n'ebibi byaffe eby'ekyama obitadde w'obirabira. Ennaku zaffe zisalwako obusungu bwo, obulamu bwaffe buggwaawo nga kikkowe. Emyaka tukoma ku nsanvu, oba kinaana bwe tuba abagumu, ng'ate gijjudde okutegana era n'ebizibu. Giyita mangu, ne tubulawo. Ani amanyi amaanyi g'obusungu bwo, era n'okunyiiga kwo bwe kutiibwa? Tuyigirize obulamu bwe buli obumpi, tulyoke tufuuke ba magezi. Obusungu bwo bulikoma wa? Abaweereza bo, ayi Mukama, tusaasire, otujjuzenga ekisa ku makya, tusanyuke tuyimbenga mu bulamu bwaffe bwonna. Otuwe essanyu lingi lisasule ebiseera biri mwe watubonyaabonyeza, n'emyaka emingi, mwe twalabira ennaku. Olage abaweereza bo bw'okola ebyamagero. Bazzukulu baabwe nabo obalage ekitiibwa kyo. Ayi Mukama Katonda waffe, emikisa gyo gibe ku ffe, emirimu gyaffe gyonna ogiwenga omukisa. Buli addukira eri oyo Atenkanika n'akuumwa Omuyinzawaabyonna, anaagambanga Mukama nti: “Ggwe Mukama wange ow'amaanyi, ggwe Katonda wange gwe neesiga,” kubanga ye anaakuwonyanga emitego gy'abakuyigga, era ne kawumpuli akutta. Ye anaakulabiriranga, akubikke mu biwaawaatiro bye. Ye mwesigwa anaakutaasanga, era anaakukuumanga. Tootyenga ebitiisa mu budde obw'ekiro, wadde ebikulumba emisana, oba olumbe oluttira mu nzikiza, wadde nnamuzisa akutugira mu ttuntu. Awo ku lusegere w'oli bandigwa ne battibwa lukumi, n'omutwalo ne bagwa ne bafa ku ludda lwo olwa ddyo, naye ggwe n'otobaako kabi. Olitunula ne weerolera omubi bw'afuna empeera ye. Mukama gw'ofudde ekiddukiro kyo, Atenkanika ye mukuumi wo ataasa. Kale tolituukibwako kabi, teri kibonoobono na kimu ekirituuka w'obeera. Bamalayika be alibalagira bakukuume buli w'oliraga. Balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja. Olirinnya ku mpologoma enkambwe, osambe emisota gikalibusagwa. Katonda agamba nti: “Ndimuwonya kubanga anjagala. Era oyo ammanyi ndimukuuma. Anampitanga ne mpitaba, mu buyinike ndibeera naye. Ndimuwonya ne mmugulumiza. Ndimuwangaaza nnyo era ndimulokola.” Ayi Mukama, kirungi okukwebazanga, n'okuyimba okukutenderezanga ggwe Atenkanika. Kirungi okwatula ekisa kyo buli nkya n'obwesigwa bwo buli kiro nga bwe tusuna enkoba z'endongo nga tukubirako n'ennanga. Ayi Mukama, bye wakola binsanyusa, nnyimba n'essanyu olw'ebyo bye watuukiriza. Ayi Mukama, by'okola bikulu, ne by'olowooza byekusifu. Omuntu eyasiruwala tamanya n'omusirusiru tategeera nti ababi ne bwe bameruka ng'omuddo, nga ne bye bakola bibagendera bulungi, naye ku nkomerero bazikirira. Kyokka ggwe ayi Mukama, ogulumizibwa ennaku zonna. Ayi Mukama, kya mazima nti abalabe bo balifa. Abakozi b'ebibi bonna nabo balisaasaanyizibwa. Naye nze ompadde amaanyi ng'ag'embogo, era onsiize omuzigo ne nnyirira. Abalabe bange ndabye bwe bawanguddwa, abannumbagana bakaabye ne mpulira. Abeesimbu mu mpisa zaabwe balyegolola ng'olukindu, balikula ng'emivule gy'omu Lebanooni. Bali ng'emiti egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama, balikulira mu mpya za Katonda waffe. Balikaddiwa ne basigala nga bakyabala ebibala, ng'era bagimu, ba mazzi. Balisigala nga bannyikivu okulaga nti Mukama mutuukirivu, ye ankuuma, era taliimu bukuusa. Mukama ye Kabaka alina ekitiibwa n'amaanyi. Ddala yanyweza ensi, teyinza kusagaasagana. Ayi Mukama, entebe yo ey'obwakabaka yanywererawo okuva edda n'edda lyonna. Oli wa lubeerera ennaku zonna. Ennyanja esiikuuse, ayi Mukama, eyimusizza amayengo n'eyira. Mukama ali mu ggulu wa maanyi okusinga okuwuuma kw'ennyanja, n'okukira amayengo gaayo ago agawuluguma ennyo lw'eba etaamye. Ayi Mukama, bye walagira tebikyuka. Obutukuvu busaanira ennyumba yo ennaku zonna. Ayi Mukama, Katonda omuwoolezi w'eggwanga, labika owoolere eggwanga. Ggwe asala emisango gya bonna, jjangu owe abeekulumbaza ekibasaanira. Ayi Mukama, ababi balituusa wa, balituusa wa okwewaana? Bonna abakozi b'ebibi beewanika, beetenda, boogera nga beewaana. Balinnyirira abantu bo, ayi Mukama, babonyaabonya abo be weefunira. Batta bannamwandu n'enfuuzi, era batemula abagenyi. Bagamba nti: “Mukama taabirabe. Katonda wa Yakobo abifaako ki?” Bantu mmwe, mwasiruwala ngeri ki? Muliba ddi n'amagezi? Eyateekawo amatu ye atawulira? Eyakola amaaso ye atalaba? Akangavvula amawanga ye atabonereza, ng'ate ye ayigiriza abantu amagezi? Mukama akimanyi nti bye balowooza mukka bukka. Ayi Mukama, wa mukisa oyo gw'okangavvulako ne gw'oyigiriza amateeka go. Omuwummuza mu biseera ebizibu okutuusa ababi lwe basimirwa obunnya, kubanga Mukama tasuula babe, abantu be tabaabulira. Obwenkanya mu misango buliddawo, ne bugobererwa bonna ab'emitima emirongoofu. Ani asituka antaase ababi? Ani ayimirira amponye abakozi b'ebyambyone? Singa Mukama teyannyamba, nandibadde nagenda dda e Butanyega. Olwayogerako nti: “Nseeredde”, ggwe ayi Mukama omuzirakisa, n'ompanirira amangwago. Bwe mbeera mu buyinike obungi onkubagiza ne nsanyuka. Abafuzi ababi tokkaanya nabo, abeesigamya obutali bwenkanya ku mateeka, abeekobaana okutta omulungi, ne basalira ogw'okufa atalina musango. Naye Nze Mukama ye ankuuma, era Katonda wange ye antaasa. Alibabonereza olw'ebibi byabwe, abazikirize olw'obubi bwabwe. Mukama Katonda waffe alibazikiriza. Mujje tutendereze Mukama, tumuyimbire n'essanyu oyo atukuuma n'atuwonya. Mujje gy'ali tumwebaze, tumuyimbire n'essanyu ennyimba tumutendereze. Mukama ye Katonda, mukulu, ye Mufuzi wa balubaale bonna. Ye afuga enkonko z'ensi eno, n'entikko z'ensozi, zize. Ennyanja yiye kubanga ye yagikola, n'olukalu ye yalwekolera. Mujje tusinze, tumuvuunamire, tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe, kubanga ye Katonda waffe, era ffe bantu b'afaako, ffe ndiga ze z'aliisa. Olwaleero bwe muwulira eddoboozi lye, “Temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe bwe baakola e Meriba, ku lunaku lwe baali e Massa mu ddungu: bwe bankema ne bangeza, newaakubadde nga bye nkola baali babirabye. Emyaka amakumi ana neetamwa abantu abo, ne ŋŋamba nti: ‘Babambaavu mu mitima, tebagondera biragiro byange.’ Kyennava nsunguwala ne ndayira nti: ‘Siribawa kuwummula n'akatono.’ ” Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, ab'oku nsi mwenna muyimbire Mukama. Muyimbire Mukama mumutendereze, mwatule buli lunaku bwe yatulokola. Mumanyise ekitiibwa kye mu mawanga, abantu bamanye by'akola ebyamagero. Mukama mukulu era agwanira okutenderezebwa ennyo, ekitiibwa kye kisinga ekya balubaale bonna. Balubaale bonna ab'amawanga amalala, bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu. Yeetooloddwa ekitiibwa n'obukulu, obuyinza n'obulungi bijjudde mu kifo kye ekitukuvu. Mukama oweekitiibwa n'amaanyi mumutendereze mwenna abali ku nsi. Mumuwe ekitiibwa kye ekimugwanidde, mujje mu mpya ze, muleete ebitambiro. Musinze Mukama, nga musaanidde, mu kifo kye ekitukuvu, ab'oku nsi mukankane mu maaso ge. Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama ye Kabaka. Ensi yaginyweza nnyo, teyinza kusagaasagana. Abantu alibalamuza bwenkanya. Eggulu ka lyesiime era n'ensi k'ejaganye, ennyanja ewuume n'ebigirimu byonna. Ennimiro k'ejaguze n'ebigirimu byonna. Emiti era n'ebibira olw'essanyu bireekaane mu maaso ga Mukama, kubanga ajja. Ajja okusalira ensi emisango Aligisala mu bwesimbu abantu abalamuze mazima. Ensi esanyuke kubanga Katonda ye Kabaka, n'ebizinga byonna bijaguze. Ebire n'ekizikiza bimwetoolodde, afugira ku bwesimbu na bwenkanya. Omuliro gumukulemberamu, ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna. Ebimyanso bye byamulisa ensi, ensi n'ebiraba n'ekankana. Ensozi zisaanuuka ng'envumbo awali Mukama, awali Mukama w'ensi zonna. Eggulu liraga nti mutuukirivu, abantu bonna balaba ekitiibwa kye. Bonna abasinza ebifaananyi ebyole n'abenyumiriza olw'ebyo ebitali Katonda, baswale. Balubaale bonna bavuunamira Mukama. Ayi Katonda, ab'omu Siyooni basanyuka, n'ab'omu bibuga bya Yuda bajaguza olw'okuwulira emisango gy'osala. Ayi Mukama, ggwe Atenkanika mu nsi zonna, ogulumizibwa okusinga balubaale bonna. Mmwe abagala Mukama, mukyawe ebibi, Mukama akuuma obulamu bw'abantu be abalungi, abawonya obuyinza bw'ababi. Ekitangaala kyakira abakola ebituufu n'essanyu liba n'ab'omutima omulongoofu. Mwenna abeesimbu musanyuke olw'ebyo Mukama by'akola. Mwebaze erinnya lye ettukuvu. Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze ebyamagero. Obuyinza bwe obutukuvu n'amaanyi ge, biwangudde. Mukama alaze nga ye muwanguzi, amawanga agalaze bw'alokola. Ajjukidde okulaga abantu ba Yisirayeli ekisa kye n'okwesigibwa. Abantu mu nsi zonna balabye nga Katonda waffe bw'awangudde. Mwe ab'oku nsi mwenna, Katonda mumuyimbire n'essanyu, muyimbe musaakaanye, mumutendereze. Muyimbe okutendereza Mukama, mumutendere ku ddoboozi ery'ennanga. Mufuuwe amakondeere n'eŋŋombe, musaakaanyize Mukama Kabaka waffe. Ennyanja ewuume n'ebigirimu byonna, ensi eyimbe n'abagiriko bonna. Emigga gikube mu ngalo, ensozi ziyimbire wamu n'essanyu, mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango. Aligugisalira mu bwesimbu aliramula abantu mu bwenkanya. Mukama ye Kabaka, amawanga gakankane. Atuula ku ntebe ye eri ku bakerubi, ensi esagaasagane. Mukama mukulu mu Siyooni, ab'amawanga gonna abasukkulumye. Batendereze erinnya lye ekkulu ery'entiisa, ye ye Mutuukirivu. Kabaka ow'obuyinza, amazima g'oyagala. Wassaawo okugobanga ensonga, n'obwesimbu mu bantu ba Yakobo. Mugulumizenga Mukama Katonda waffe, muvuuname w'ateeka ebigere bye, mumusinze ye ye Mutuukirivu. Musa ne Arooni baali bakabona be, ne Samweli ye omu ku baamukoowoolanga. Baayita Mukama n'abaanukula. Yayogera nabo ng'asinziira mu mpagi ey'ekire; baakwata amateeka n'ebiragiro bye yabawa. Ayi Mukama Katonda waffe, wabaanukula. Walaga nti ggwe Katonda asonyiwa, wadde wababonereza olw'ebibi byabwe. Mugulumize Mukama Katonda waffe, mumusinze ku lusozi lwe olutukuvu, kubanga Mukama Katonda waffe Mutuukirivu. Mmwe ab'omu nsi zonna muyimbire Mukama. Muweereze Mukama n'essanyu, mujje mu maaso ge nga muyimba. Mumanye nga Mukama ye Katonda, ye yatutonda, era tuli babe. Tuli bantu be era ndiga ez'omu ddundiro lye. Muyingire mu miryango gy'ennyumba ye nga mumwebaza, ne mu mpya ze nga mumutendereza. Mumwebaze era mumutendereze, kubanga Mukama mulungi, ekisa kye kya lubeerera, obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna. 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11 Ka nnyimbe ku bwesigwa n'amazima, nnyimbire ggwe, ayi Mukama. Nnaagobereranga empisa ennungi. Kale olijja ddi gye ndi! Nnaabeeranga wa mutima mulongoofu mu nnyumba yange. Seesemberezenga kintu na kimu ekitasaana, nkyawa ebikolwa by'abeggya ku Katonda, siibyetabengamu. Abakumpanya nnaabeewalanga, siikolaganenga na babi. Nja kweggyangako awaayiriza munne mu kyama, eyeepanka era eyeekulumbaza siimugumiikirizenga. Abeesigwa mu nsi be nnaasiimanga okubeera nange, abagoberera empisa ennungi be banampeerezanga. Ow'enkwe taabeerenga mu nnyumba yange, n'omulimba taabeerenga nange. Buli olukya nnaazikirizanga ababi mu nsi, mmalirewo ddala abakola ebyambyone mu kibuga kya Mukama. Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, n'okukaaba kwange kutuuke gy'oli. Totunula bbali nga ndi mu buzibu. Wulira kye ŋŋamba, bwe nkowoola onziremu mangu, Obulamu bwange buggwaawo ng'omukka, n'omubiri gwange gwokebwa ng'omumuli. Nkubiddwa ne mpotoka ng'omuddo, n'agalya emmere sirina. Nsigaddeko magumba na lususu, nga kiva ku kusinda nnyo. Ndi ng'ekinyonyi eky'omu ddungu, nfuuse ng'ekiwuugulu mu matongo. Sikyebaka ku tulo, ndi ng'ennyonyi eri yokka, ku kitikkiro ky'ennyumba. Abalabe bange banvuma olunaku lwonna, abanjerega, bakozesa erinnya lyange nga bakolima. Kati evvu lye ndya ng'emmere, bye nnywa ntabulamu amaziga, kubanga wansunguwalira n'onyiiga, wanneggyako n'onsuula. Obulamu bwange kye kisiikirize eky'olweggulo ekiggwaawo, era mpotose ng'omuddo. Naye ggwe ayi Mukama, obeerawo emirembe gyonna, era omanyibwa aba buli mulembe. Olijja n'okwatirwa Siyooni ekisa, ekiseera kituuse okumusaasira, ddala buno bwe budde. Abaweereza bo baagala nnyo Siyooni, basaalirwa okulaba bwe kizikiridde! Amawanga gonna galitya Mukama, bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kye. Mukama bw'alizimba Siyooni obuggya, alimanyisa ekitiibwa kye. Aliwulira okusaba kw'abanaku, talinyooma kwegayirira kwabwe. Kino kiwandiikirwe ab'omulembe ogujja, abalizaalibwa batendereze Mukama, nti yatunula wansi ng'asinziira awatukuvu awagulumivu, yatunula wansi ng'asinziira mu ggulu. N'awulira okusinda kw'abasibe, n'asumulula ababadde ab'okutta, abantu balyoke bamumanyise mu Siyooni, era bamutenderereze mu Yerusaalemu, amawanga n'amatwale nga gakuŋŋaanye okusinza Mukama. Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka, obulamu bwange abusazeeko. Ne ŋŋamba nti: “Ayi Katonda wange, tonzigyawo nga sinnakaddiwa, ggwe abeerawo emirembe gyonna.” Edda n'edda ennyo watonda ensi, n'eggulu ggwe walikola wennyini. Byo biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ng'ekyambalo. Olibikyusa ng'ekyambalo, ne biggwaawo. Naye ggwe tokyukako, n'obulamu bwo tebulikoma. Abaana b'abaweereza bo balibeerawo ng'obakuuma. N'ezzadde lyabwe linaabeerangawo mu maaso go. Ggwe omwoyo gwange, tendereza Mukama, buli ekiri mu nze kimutendereze. Ggwe omwoyo gwange, tendereza Mukama, era teweerabira ebirungi byonna by'akola. Yakusonyiwa ebibi byo byonna, n'akuwonya obulwadde bwo bwonna. Obulamu bwo yabuwonya okuzikirira, era n'akuwa omukisa olw'ekisa kye n'okusaasira kwe. Obulamu bwo abujjuza ebirungi, obuvubuka bwo ne budda buggya ng'obw'empungu. Mukama wa mazima, asala emisango, abanyigirizibwa ne basinga. Yamanyisa Musa entegeka ze, n'alaga Abayisirayeli ebikolwa bye. Mukama musaasizi, asonyiwa, alwawo okusunguwala, era wa kisa nnyo. Taanenyenga lugenderezo, taasibenga busungu bulijjo. Tatubonereza nga bwe tusaanira, era tatusasula kisaanira bikolwa byaffe ebibi. Ng'eggulu bwe lyesudde ennyo ensi, n'ekisa kye gye kikomya okuba ekingi ku abo abamussaamu ekitiibwa. Ng'ebuvanjuba bwe weesudde ebugwanjuba, bw'atyo bw'atuggyako ebibi byaffe, ne bitubeera wala. Nga kitaawe w'abaana bw'asaasira abaana be, bw'atyo ne Mukama bw'asaasira abamussaamu ekitiibwa. Amanyi bwe twakolebwa, ajjukira nga tuli nfuufu. Ekiseera ky'obulamu bw'omuntu, kiba kitono ng'eky'omuddo. Akula n'ayanya ng'ekimuli ky'omu ttale. Embuyaga zikiyitako nga zikunta, ne kigenda ne kitaddawo we kibadde. Naye okuva edda n'edda Mukama akwatirwa ekisa abamussaamu ekitiibwa, era obulungi bwe abulaga abaana b'abaana baabwe. Abulaga abatuukiriza endagaano ye, ne banyiikira okukola by'ayagala. Mu ggulu Mukama mwe yanyweza entebe ye, era ye Kabaka afuga byonna. Mutendereze Mukama mmwe bamalayika be, ab'amaanyi abakola by'alagira, era abawulira by'agamba. Mutendereze Mukama mmwe ab'omu ggye lye, mmwe abaweereza be abakola by'ayagala. Mutendereze Mukama mmwe ebitonde bye mwenna mu bifo by'afuga byonna. Ggwe omwoyo gwange, tendereza Mukama. Ggwe omwoyo gwange tendereza Mukama. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo. Oyambadde ekitiibwa n'obukulu. Weebikka ekitangaala ng'ekyambalo, otimba eggulu ng'eweema. Ozimba ennyumba yo ku mazzi aga waggulu, ofuula ebire ekigaali kyo, ne weebagala ku biwaawaatiro by'embuyaga. Embuyaga ogifuula ababaka bo, omuliro n'ennimi zaagwo obifuula abaweereza bo. Wateeka ensi ku misingi gyayo, eremenga kunyeenyezebwa ennaku zonna. Wagibikkako ennyanja ng'ekyambalo, amazzi ne gabikka ensozi. Bwe wagakayukira, ne gadduka; gaakulugguka bwe gaawulira eddoboozi lyo bwe libwatuka. Gaakulukutira ku nsozi, ne gaserengetera mu biwonvu, ne gatuuka mu kifo kye wagateerawo. Wagateerawo ensalo gye gatayinza kusukka, galeme kuddamu okubikka ensi. Okulukusa ensulo z'amazzi mu biwonvu, emigga ne gikulukutira wakati w'ensozi. Ebisolo binywa amazzi, entulege ne ziwona ennyonta. Ebinyonyi bizimba ebisu byabyo era biyimbira mu miti egiriraanyeewo. Enkuba eva mu bire ogitonnyesa ku nsozi, ensi n'ejjula ebibala by'ogibazisa. Omeza omuddo gw'ensolo, n'ebimera ebigasa abantu. Abantu ne bakuza ebirime byabwe, mwe baggya omwenge ogw'emizabbibu ogubasanyusa, n'omuzigo ogubanyiriza, era n'emmere ebawa amaanyi. Enkuba ennyingi y'efukirira emivule, Mukama gye yameza mu Lebanooni. Mu gyo ebinyonyi byezimbira ebisu, ne ssekanyolya mw'azuula w'asula. Ennangaazi zisula ku nsozi empanvu, obumyu bwekweka mu njazi. Wateekawo omwezi okubala ebiro. Enjuba, essaawa y'okugwa egimanya. Bw'ossaawo ekizikiza, ne buba kiro, ebisolo byonna eby'omu ttale ne bivaayo. Empologoma ento ziwuluguma, nga ziyigga kye zinaalya, ne zinoonya ekyokulya Katonda ky'anaaziwa. Enjuba bw'evaayo, ne ziddayo, ne zeebaka mu mpuku zaazo. Olwo abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe, ne bakola okutuusa akawungeezi. Ayi Mukama, nga bye wakola bingi nnyo! Byonna wabikozesa magezi. Ensi ejjuddemu ebitonde byo. Waliwo ennyanja ennene engazi, omuli ebiramu ebitabalika. Mulimu ebitono n'ebinene. Amaato gaseeyeeyerako. Ne Lukwata, ekikulejje kye watonda, kizannyira omwo. Byonna ggwe bitunuulira, obiwe emmere buli lwe bigyetaaga. Ggwe obigabula ne birya, obigabira ne bikkuta. Bw'otunula ebbali, ne byeraliikirira, bw'obiggyamu omukka, ne bifa, ne bidda mu nfuufu mwe byava. Bw'obiteekamu omukka ne biba biramu, ensi n'ogizza buggya. Ekitiibwa kya Mukama kibe kya lubeerera, Mukama asanyukire bye yakola. Atunuulira ensi, n'ekankana; akwata ku nsozi ne zinyooka omukka. Obulamu bwange bwonna nnaayimbiranga Mukama, nnaayimbanga okumutendereza okutuusa lwe ndifa. Okwebuulirira kwange kumusanyusenga, kubanga nsanyukira by'akola. Aboonoonyi bazikirire baggweewo mu nsi, ababi baleme kusigalawo. Ggwe omwoyo gwange, tendereza Mukama. Mutendereze Mukama. Mwebaze Mukama, mumukoowoole, mumanyise amawanga bye yakola. Mumuyimbire, muyimbe mumutendereze, mwogere ku byamagero byonna bye yakola. Mwenyumiririze mu ye Omutuukirivu, abeeyuna Mukama basanyuke. Mweyune Mukama era n'amaanyi ge, mumweyunenga bulijjo. Mujjukire ebyamagero n'ebyewuunyo bye yakola, era n'emisango gye yasala, mmwe ezzadde lya Aburahamu omuweereza we, mmwe bazzukulu ba Yakobo abalondemu be. Ye Mukama Katonda waffe, ye asalawo ensonga z'ensi zonna. Ajjukira endagaano ye bulijjo, ne bye yasuubiza emirembe olukumi. Ye ndagaano gye yakola ne Aburahamu ne bye yasuubiza Yisaaka ng'alayira n'okulayira. Ye ndagaano gye yanyweza ne Yakobo, n'eba ya lubeerera ne Yisirayeli. Yagamba nti: “Ndibawa ensi ya Kanaani, eribeerera ddala yammwe ku bwammwe.” Baali bakyali batono nga tebannawera, era nga batambuze mu nsi eyo, nga batambula okuva mu nsi emu okudda mu ndala, okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala. Kyokka teyabaako gw'akkiriza kubabonyaabonya. Okubataasa, yalabula bakabaka nti: “Temuukwatenga ku basiige bange, n'abalanzi bange temuubakolengako kabi.” Awo n'aleeta enjala mu nsi eyo, n'abaggyako emmere yaabwe yonna. Yatuma omuntu okubakulemberamu, ye Yosefu eyatundibwa okuba omuddu. Ebigere bye baabirumya, nga babisiba n'enjegere, ne bamusiba ekyuma mu bulago, okutuusa nga kye yali ayogedde kimaze okutuukirira. Ekigambo kya Mukama kyakakasa nti yali mutuufu. Kabaka w'e Misiri yatuma ne bamusumulula, omufuzi w'amawanga n'amuta. N'amuwa obukulu mu nnyumba ye, n'amukwasa okulabirira ebibye byonna, aluŋŋamyenga abalangira nga bw'ayagala, era awenga abakungu be amagezi. Olwo Yisirayeli n'ajja e Misiri, Yakobo n'asenga mu nsi ya Haamu. Mukama n'awa abantu be okuzaala ennyo, n'abawa n'amaanyi okusinga abalabe baabwe. N'awa Abamisiri okukyawa abantu be, n'okusalira abaweereza be enkwe. N'atuma Musa omuweereza we, ne Arooni gwe yalonda. Ne bakola ebyewuunyo bye mu Bamisiri, n'ebyamagero mu nsi ya Haamu. Mukama n'aleeta ekizikiza ne kikwata ku nsi, Abamisiri ne bajeemera ebigambo bye. Emigga gyabwe n'agifuula omusaayi, ebyennyanja byabwe ne bifa. Ensi yaabwe n'ejjula ebikere, ne biyingira ne mu bisenge bya kabaka waabwe. Mukama n'awa ekiragiro ebibinja by'ensowera n'obutugu ne bijja mu nsi yaabwe yonna. N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba, n'okumyansa ne kubuna mu nsi yaabwe. N'azikiriza emizabbibu n'emitiini gyabwe, n'amenya n'emiti gyonna mu nsi yaabwe. N'alagira enzige ne zijja, ne bulusejjera ne buba bungi obutabalika. Ne zirya ebimera byonna mu nsi yaabwe, ne zirya n'ebibala byabwe byonna. N'atta batabani baabwe abaggulanda bonna mu nsi yaabwe. N'alyoka aggyayo Abayisirayeli nga balina ffeeza ne zaabu, nga bonna balamu era ba maanyi. Abamisiri ne basanyuka bwe baagenda, kubanga baali babakubye entiisa. Mukama n'ayanjuluza ekire okubabikka, n'assaawo n'omuliro okubawa ekitangaala ekiro. Ne basaba, n'abawa entiitiri, era n'abakkusa n'omugaati oguva mu ggulu. Yayasa olwazi, amazzi ne gafumbukuka, ne gakulukuta mu ddungu ng'omugga, kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu kye yasuubiza Aburahamu omuweereza we. Kyeyava aggyayo abantu be, be yalonda, ne bavaayo nga basanyuka era nga bayimba. N'abawa ensi z'ab'amawanga amalala, ne bafuna ebyo abalala bye baateganira okulima, balyoke bakwatenga ebiragiro bye, era bakuumenga amateeka ge. Mutendereze Mukama. Mutendereze Mukama, ekisa kye kya mirembe gyonna. 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11 Ani ayinza okubala eby'amaanyi by'akola, oba okumutenda n'amalayo? Ba mukisa abakwata by'alagira, abakola ebituufu bulijjo. Nzijukira, ayi Mukama, ng'olaga abantu bo ekisa. Nnyamba ng'obanunula. Be walonda ndabe bwe bafuna omukisa, ngabane ku ssanyu ly'eggwanga lyo, nsanyuke olw'okubalirwa mu babo. Twayonoona nga bajjajjaffe, twakola ebibi ebitasaana. Bajjajjaffe baalemwa okutegeera ebyamagero Mukama bye yakola e Misiri. Tebajjukira kisa kye ekingi, naye baajeemera ku nnyanja ku Nnyanja Emmyufu. Kyokka ye n'abawonya nga bwe yali asuubizza, alyoke alage obuyinza bwe obungi. Yalagira Ennyanja Emmyufu n'ekalira, ne bayita awakalu, nga bali ng'abayita mu ddungu. Yabawonya ababakyawa n'abaggya mu buyinza bw'abalabe. Abalabe baabwe battibwa amazzi ne watasigalawo n'omu. Olwo abantu be ne bakkiriza bye yali abasuubizza, ne bayimba nga bamutendereza. Beerabira mangu bye yakola, tebaalinda kumala kumwebuuzaako, ne bajjula okwoya ennyo mu ddungu, olwo ne bagerezaayo Katonda. N'abawa bye baamusaba, kyokka n'abaleetera okwennyamira. Nga bali mu lusiisira baakwatirwa Musa obuggya, ne Arooni omutukuvu wa Mukama. Ensi yayasama n'emira Datani, n'eziika Abiraamu n'ekibiina kye. N'omuliro gwakoleera ku kibiina ekyo, ne gwokya abantu abo ababi. Baasaanuusiza zaabu e Horebu, ne bakolamu ekifaananyi ky'ennyana, ne bakisinza. Ekitiibwa kye bandiwadde Katonda, ne bakiwa ekifaananyi ky'ente erya omuddo. Beerabira Katonda eyabalokola, n'ebikulu bye yakolera e Misiri, ebyamagero mu nsi ya Haamu, eby'entiisa ku Nnyanja Emmyufu! Yali agambye nti abasaanyeewo, singa Musa omulondemu we teyeesimbawo w'ali, okuziyiza obusungu bw'aleese okubazikiriza bonna. Olwo ne banyooma ensi ennungi ennyo, kubanga kye yasuubiza tebaakikkiriza. Beemulugunyiza mu nsiisira zaabwe, ne batawulira Mukama ky'agamba. Kyeyava abalabula ng'alayira nti alibattira mu ddungu, ezzadde lyabwe lisaasaanire mu mawanga, libulire gye liwaŋŋangukira. Ate bwe baatuuka e Peyori ne beetaba mu kusinza Baali. Ne baguma okulyanga ebyo abafu bye batambirirwa. Baasunguwaza Mukama olw'ebikolwa byabwe, kawumpuli n'ajja mu bo. Finehaasi kyeyava asituka n'abonereza abasobya, olwo kawumpuli n'akka. Ekyo ne kimuyisa omutuukirivu anajjukirwanga emirembe gyonna. Era baanyiiriza Mukama ku mazzi g'e Meriba, ne baleetera Musa emitawaana: kubanga baamunakuwaza nnyo, n'ayogera nga talowoozezza. Tebaasaanyaawo bantu b'amawanga amalala, nga Mukama bwe yabalagira okukola. Naye ne babeetabamu, ne bayiga empisa zaabwe. Ne baweereza balubaale baabwe, ekyabaleetera okugwa mu kabi. Emizimu emibi ne bagitambiriranga abaana baabwe abalenzi n'abawala. Battanga abaana baabwe abataliiko musango, ne babatambirira balubaale b'e Kanaani. Ensi n'eyonoonebwa obutemu. Bwe batyo ne beejaajaamya n'ebikolwa byabwe ebyo, era ne bava ku Katonda. Mukama kyeyava asunguwalira abantu be, n'abatamirwa ddala. N'abawaayo mu buyinza bw'amawanga amalala, abaabakyawa ne babafuga. Omulabe waabwe n'ajooga, n'afuga abo n'akamala! Emirundi mingi Mukama n'abawonya, kyokka ne balondawo okumujeemera. Ne bongera okwessa mu bibi byabwe. Kyokka ye bwe yawuliranga nga bakaaba, ng'abalumirwa olw'obuyinike bwabwe. Olw'obulungi bwe ng'ajjukira endagaano ye, n'olw'ekisa kye ekingi, obusungu bwe nga bukkakkana. N'abaleetera okusaasirwanga bonna abaabanyaganga. Ayi Mukama Katonda waffe, tuwonye, otukuŋŋaanye otuggye mu mawanga tulyoke tukwebazenga, era tukutenderezenga ggwe Omutuukirivu. Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwenga emirembe n'emirembe. Era abantu bonna bagambenga nti: “Amiina.” Mutendereze Mukama. “Mwebaze Mukama kubanga mulungi ekisa kye kya mirembe gyonna”. 106:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11 Bonna boogere bwe batyo Mukama be yanunula, n'abawonya obuyinza bw'omulabe, n'abakuŋŋaanya ng'abaggya mu nsi ennyingi, mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo. Baawabira awatali kkubo mu ddungu, nga tebamanyi bwe balituuka mu kibuga kya kubeeramu. Baalumwa enjala n'ennyonta, ne baggwaamu n'essuubi. Ne bakaabirira Mukama mu buzibu bwabwe, n'abawonya obuyinike bwabwe. N'abaluŋŋamya mu kkubo eggolokofu, n'abatuusa mu kibuga eky'okubeeramu. Kale beebaze Mukama olw'ekisa kye n'olw'ebyamagero by'akolera abantu. Abalumwa ennyonta agibamalako, n'abayala n'abakkusa ebirungi. Abalala baali mu kizikiza ne mu kwennyamira, nga bali mu nnaku, basibiddwa mu njegere, olw'okujeemera ebiragiro bya Katonda n'okunyooma ebyo ebyabakuutirwa Atenkanika. Baakoowa olw'emirimu emikakali, ne bagwa wansi ne babulwa abayamba. Ne bakaabirira Mukama mu buzibu bwabwe, n'abawonya obuyinike bwabwe. N'abaggya mu kizikiza ne mu kwennyamira, n'akutulakutula enjegere zaabwe. Kale beebaze Mukama olw'ekisa kye, n'olw'ebyamagero by'akolera abantu. Amenya enzigi ez'ekikomo, n'akutulamu ebisiba eby'ekyuma. N'abalala baali basirusiru ne babonaabona olw'ebibi byabwe, okwonoona kwabwe ne kubabuza emirembe. Ne batamwa ebyokulya byonna, ne babulako katono okufa. Ne bakaabirira Mukama mu buzibu bwabwe, n'abawonya obuyinike bwabwe. Yalagira bulagizi n'abawonya, n'abaggya mu kizikiza. Kale beebaze Mukama olw'ekisa kye, n'olw'ebyamagero by'akolera abantu. Baweeyo ebitambiro okumwebaza, era bayimbe okutendereza by'akola. Abamu baaseeyeeyera mu maato ku nnyanja, ne bakolera emirimu gyabwe ku mazzi. Ne balaba ebyamagero, Mukama by'akolera mu buziba. Yalagira omuyaga ne gukunta, ne guyimusa amayengo g'ennyanja. Amaato ne gatumbiira waggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi, ne baterebuka olw'okuba mu kabi. Ne beesunda eruuyi n'eruuyi, ne batagatta ng'abatamiivu, amagezi ne gabaggwaamu. Ne bakaabirira Mukama mu buzibu bwabwe, n'abawonya obuyinike bwabwe. N'akkakkanya omuyaga, amayengo g'ennyanja ne gateeka. Ne basanyuka olw'okutebenkera, n'abagobya ku mwalo we baagala okugoba. Kale beebaze Mukama olw'ekisa kye, n'olw'ebyamagero by'akolera abantu. Bamugulumize mu lukuŋŋaana lw'abantu, bamutenderereze mu lukiiko lw'abantu abakulu. Akaliza ddala emigga, n'azibikira ensulo z'amazzi. Ensi ebala agifuula enkalu ey'olunnyo, olw'ebibi by'abo abagibeeramu. Eddungu alifuula ebidiba by'amazzi, n'ensi enkalu agifuula ensulo ezikulukuta. Omwo mw'ateeka abalina enjala bazimbemu ekibuga mwe banaabeera. Ne basiga ensigo mu nnimiro, ne basimba emizabbibu, beeyalize ebibala mu makungula. Era n'abawa emikisa ne beeyongera nnyo obungi, era n'ataganya na nte zaabwe kukendeera. Bwe baawangulwa ne batoowazibwa olw'okunyigirizibwa, n'obuyinike era n'obuzibu, n'anyoomesa ababanyigiriza, n'abaleetera okuwabira awatali kkubo mu ddungu. Kyokka abanaku n'abawonya obuyinike, amaka gaabwe n'agajjuza abantu, nga bw'ayaza amagana. Abatuukirivu balaba bino ne basanyuka, ababi bonna ne basirisibwa. Buli alina amagezi, bino abiteekeko omwoyo. Abantu balowoozenga ku kisa kya Mukama. Omutima gwange mugumu, ayi Katonda, omutima gwange mugumu, nnaayimba ne nkutendereza. Zuukuka ggwe mwoyo gwange, zuukuka ggwe entongooli! Oli ludda wa ggwe ennanga? Ŋŋenda okuzuukusa emmambya. Nnaakwebazanga, ayi Mukama, nga ndi mu bantu, nnaayimbanga ne nkutenderereza mu mawanga. Ekisa kyo kigulumivu okutuuka ku ggulu, ku ggulu gye kyekoona. Obwesigwa bwo butuuka ne ku bire. Gulumizibwa okusinga eggulu, ayi Katonda, ekitiibwa kyo kibune ensi yonna. Nziraamu kye nkusaba otuwonye n'obuyinza bwo, abaagalwa bo banunulibwe. Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu, n'agamba nti: “Ndijaguza nga ngabanya mu Sikemu, ne ngaba ebitundu by'Ekiwonvu Sukkoti. Gileyaadi nsi yange, ne Manasse yange. Efurayimu ye nkuufiira yange, Buyudaaya gwe muggo gwange ogw'obwakabaka. Mowaabu ye bbenseni mwe nnaabira, Edomu gwe nkasukako engatto zange, okulaga nti nsi yange. Mu Filistiya njogeza maanyi olw'obuwanguzi.” Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani alintuusa mu Edomu? Otuvuddemu, ayi Katonda? Tokyatambulira wamu na magye gaffe, ayi Katonda! Tuyambe okulwanyisa omulabe, kubanga obuyambi bw'abantu tebugasa. Nga Katonda ali ku ludda lwaffe, tuliba ba maanyi. Ye alirinnyirira abalabe baffe. Ayi Katonda gwe ntendereza, tosirika busirisi. Ababi n'abalimba boogera nga bampaayiriza. Banjogerera eby'obukyayi bannumbaganira bwereere. Wadde mbaagala, bo bampalana. Nze kye nkola, kubasabira. Mu kirungi bampaamu kibi. Nze mbaagala, bo bankyawa. Omulabe wange omusseeko omuntu omubi, n'omu ku balabe be ye aba amulumiriza. Bw'awozesebwa, bagusale gumusinge, n'okwewolereza kwe kubalibwe ng'ekibi. Ekiseera ky'obulamu bwe kikendeere, omulimu gwe gutwalibwe omulala. Abaana be babe bamulekwa, mukazi we abe nnamwandu. Abaana be babe bakireereese, basabirizenga. Bagobwenga mu bifulukwa bye basulamu. Amubanja anyage by'alina, abagwira baaye byonna bye yakolerera. Abulwe amukwatirwa ekisa, wadde alabirira abaana be b'alese nga bamulekwa. Ezzadde lye life liggweewo, aleme kujjukirwa mu mirembe egiriddirira. Mukama ajjukire ebibi bya bajjajjaabe, n'ekibi kya nnyina kireme kusonyiyibwa. Bijjukirwenga Mukama ennaku zonna, naye bo beerabirirwe ddala ku nsi, kubanga teyalina kisa. Yayigganya abaavu n'abali mu bwetaavu, era n'abaterebuse, okubatta. Ye ayagala okukolima, k'akolimirwe. Teyayagaliza balala mikisa, naye ka gimwesambe. Okukolima yakufuula ng'ekyambalo kye, ka kumuyingire mu mubiri ng'amazzi, ne mu magumba ng'omuzigo. Ebikolimo bimubikke ng'ekyambalo, era abyesibe bulijjo ng'olukoba. Ebyo Mukama by'aba aweera abalabe bange, aboogera obubi ku bulamu bwange. Naye ggwe, ayi Mukama Katonda wange, nnyamba nga bwe wasuubiza. Mponya olw'ekisa kyo ekirungi, kubanga ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, nkoseddwa mu mutima. Nnaatera okuggwaawo ng'ekisiikirize, nsammulwa eri ng'enzige. Amaviivi gange ganafuye olw'obutalya, nkozze nsigadde magumba. Abandaba banvuma, banyeenya n'emitwe olw'okungaya. Nnyamba, ayi Mukama Katonda wange, mponya olw'ekisa kyo, balyoke bamanye nti Mukama ggwe omponyezza. Kale bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa. Oswaze abanjigganya, naye nze omuweereza wo nsanyuke. Abalabe bange bambale okuswala, babikkibwe ensonyi ng'ekyambalo. Ndyebaza Mukama mu ddoboozi ery'omwanguka, ndimutenderereza mu lukuŋŋaana lw'abantu, kubanga ataasa omwavu, n'amuwonya amusalira ogw'okufa. Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula ng'onninaanye, ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.” 15:25; Beef 1:20-22; Bak 3:1; Beb 1:13; 8:1; 10:12-13 Ng'oli mu Siyooni, Mukama aligaziya obuyinza bwo, n'agamba nti: “Fuga abalabe bo.” Ku lunaku lw'olwanyisa abalabe bo abantu bo balyewaayo okulwana nga beeyagalidde. Abavubuka bo balijja gy'oli, ku nsozi entukuvu, ng'omusulo ogw'oku makya. Mukama talikyusa kye yasuubiza ng'alayira: “Oli Kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Melikizeddeki.” Mukama ali ku ludda lwo olwa ddyo, bw'alisunguwala, aliwangula bakabaka. Alisala omusango mu mawanga, alijjuza eddwaniro emirambo, aliwangula bakabaka mu nsi zonna. Kabaka alinywa ku nsulo eri ku kkubo, aliddamu amaanyi n'awangula. Mutendereze Mukama. Neebaza Mukama n'omutima gwange gwonna abatuukirivu we bakuŋŋaanidde. Mukama by'akola bikulu, ababisanyukira be babyetegereza. Buli kimu ky'akola kijjudde ekitiibwa n'obukulu, obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna. Mukama wa kisa era musaasizi, atujjukiza ebikolwa bye ebyewuunyisa. Abamussaamu ekitiibwa abawa ebyokulya, teyeerabira ndaagaano ye n'akatono. Abantu be abalaze obuyinza bwe, ng'abawa ensi y'ab'amawanga amalala. Mu byonna by'akola mwesigwa era mwenkanya, ebiragiro bye tebikyukakyuka. Bibeerawo ennaku zonna, byateekebwawo mu mazima na mu butuukirivu. Yanunula abantu be, n'akola nabo endagaano ey'olubeerera. Mutuukirivu era waakitiibwa Okussaamu Mukama ekitiibwa ye ntandikwa y'amagezi. Bonna abakola bwe batyo, be bategeevu. Mukama wa kutendebwanga emirembe gyonna. Mutendereze Mukama! Wa mukisa oyo assaamu Mukama ekitiibwa, asanyukira ennyo okukwata ebiragiro bye. Abaana be, banaabeeranga ba maanyi ku nsi. Ezzadde ly'omutuukirivu linaabeeranga lya mukisa. Amaka ge galifuna ebintu ne gagaggawala, anaabeeranga mwesimbu bulijjo. Omutuukirivu ekitangaala kimwakira mu kizikiza. Oyo wa kisa, musaasizi, era mwenkanya. Wa mukisa akola eby'ekisa era awola, omwesigwa mu by'akola. Anaabeeranga munywevu bulijjo, anajjukirwanga ennaku zonna. Amawulire amabi tagatya, aguma nga yeesiga Mukama. Tatya, omutima gwe mugumu, okutuusa lw'aliraba ng'abalabe be bawanguddwa. Wa kisa mu kugabira abaavu, ekisa kye tekimuggwaako. Alisiimibwa n'aweebwa ekitiibwa. Ekyo omubi akiraba ne kimusunguwaza, aluma amannyo ng'anyolwa. Omubi by'ayagala birimufa. Mutendereze Mukama. Mmwe abaweereza ba Mukama, mumutendereze. Erinnya lye litenderezebwe okuva kaakano n'okutuusa emirembe gyonna. Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba mutendereze erinnya lya Mukama. Mukama ye afuga amawanga gonna, ekitiibwa kye kisinga n'eggulu. Tewali ali nga Mukama Katonda waffe abeera waggulu, n'akutama okutunuulira ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi. Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, abankuseere abayimusa okubaggya ku ntuumu y'ebisasiro, n'abatuuza wamu n'abalangira, abalangira b'abantu be. Aweesa omukazi omugumba ekitiibwa mu maka, n'amusanyusa ng'amuwa okuzaala abaana. Mutendereze Mukama. Abayisirayeli bwe baava e Misiri, ab'ennyumba ya Yakobo nga bazaawuka okuva mu ggwanga eryo, Buyudaaya n'eba ekifo kya Mukama ekitukuvu Yisirayeli n'eba ensi eyiye ku bubwe. Ennyanja Emmyufu yalaba n'eddukawo, Omugga Yorudaani gwaddayo emabega. Ensozi zaabuukabuuka ng'endiga eza sseddume, era n'obusozi ne buligita ng'obuliga. Waba otya okudduka ggwe ennyanja? Yorudaani lwaki ggwe waddayo emabega? Kale mmwe ensozi kiki ekyababuusabuusa ng'endiga eza sseddume? Nammwe obusozi mwaligitira ki ng'obuliga? Kankana ggwe ensi, kubanga Mukama atuuse, atuuse Katonda wa Yakobo, eyafuula olwazi ekidiba ky'amazzi, n'amayinja n'agafuula oluzzi. Ayi Mukama, ekitiibwa tekigwana ffe, si ffe, wabula kigwana ggwe, olw'ekisa kyo n'obwesigwa bwo. Ab'amawanga amalala lwaki batubuuliriza nti: “Katonda wammwe ali ludda wa?” Katonda waffe mu ggulu gy'abeera, akola byonna by'ayagala. Balubaale baabwe bifaananyi bya ffeeza na zaabu ebyakolebwa abantu. Birina emimwa, naye tebyogera, birina amaaso, naye tebiraba. Birina amatu, naye tebiwulira, birina ennyindo, naye tebiwunyiriza. Birina engalo, naye tebikwata, birina ebigere, naye tebitambula. Ababikola bafaanana nga byo, buli abyesiga bw'atyo bw'ali. Mmwe abantu ba Yisirayeli, mwesige Mukama, ye abayamba era ye abakuuma. Mmwe ab'ennyumba ya Arooni, mwesige Mukama, ye abayamba era ye abakuuma. Mwesige Mukama mwenna abamussaamu ekitiibwa, ye abayamba era ye abakuuma. Mukama atujjukira. Alituwa omukisa. Aliguwa abantu ba Yisirayeli, aliguwa ab'ennyumba ya Arooni. Aliguwa abamussaamu ekitiibwa, abato era n'abakulu. Mukama abawe mmwe okwala, mmwe n'abaana bammwe. Mukama abawenga omukisa, eyakola eggulu n'ensi. Eggulu eryo lya Mukama, ensi gye yawa abantu. Abafu si be batendereza Mukama, wadde abakkirira emagombe eteri kanyego. Naye ffe abalamu tuneebazanga Mukama, okuva kaakano n'okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama. Njagala Mukama, kubanga awulira okwegayirira kwange. Ampuliriza, kyennaavanga mmukoowoola mu bulamu bwange bwonna. Akabi ak'okufa kantaayiza, obulumi obw'emagombe ne bunkwata, ne nzijula obuyinike, ne nkaluubirirwa. Kyennava nkoowoola Mukama, nti: “Nkwegayiridde, Mukama, mponya!” Mukama wa kisa era mulungi, Katonda waffe musaasizi. Mukama akuuma abatalina nkwe: bwe natoowazibwa, n'andokola. Omutima ka gunzire mu nteeko, Mukama ankwatiddwa ekisa kingi. Mukama amponyezza okufa, n'ansangula amaziga. Era amponyezza okusirittuka ne ngwa. Kyenva ntambulira mu maaso ga Mukama, nga ndi mu nsi y'abalamu. Nasigaza okukkiriza ne bwe nagamba nti: “Mbonyeebonye nnyo!” Era ne bwe nagamba nti: “Teri muntu yeesigibwa!” Kiki kye ndiwa Mukama, olw'ebirungi by'ankoledde nze? Ndisitula ekikopo okwebaza Mukama olw'okundokola. Mu maaso g'abantu be bonna, ndimuwa kye mmusuubizza. Mu maaso ga Mukama okufa kw'abatuukirivu be kuba kwa muwendo nnyo. Ndi muweereza wo, ayi Mukama, nga mmange bwe yali. Omponyezza okufa. Ndikuwa ekitambiro okukwebaza, ne nkukoowoola, ayi Mukama. Ndiwa Mukama kye namusuubiza, ndikimuweera mu maaso g'abantu be bonna, mu mpya z'ennyumba ye, wakati mu ggwe Yerusaalemu. Mutendereze Mukama! Mutendereze Mukama mmwe amawanga gonna, mumutendereze mmwe abantu mwenna, kubanga atukwatirwa ekisa kingi, n'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna. Mutendereze Mukama. Mwebaze Mukama, kubanga mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna. 106:1; 107:1; 136:1; Yer 33:11 Abantu ba Yisirayeli bagambe nti: “Ekisa kye kya mirembe gyonna.” Ab'ennyumba ya Arooni bagambe nti: “Ekisa kye kya mirembe gyonna.” Abassaamu Mukama ekitiibwa bagambe nti: “Ekisa kye kya mirembe gyonna.” Bwe nali mu buyinike nakoowoola Mukama, n'anziramu n'amponya. Mukama ali nange, siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki? Mukama ali nange okunnyamba, kyendiva mpangula abankyawa. Okwesiga Mukama kusinga okwesiga abantu. Okwesiga Mukama, kusinga okwesiga abafuzi. Abalabe bangi bannneetooloola. Naye olw'obuyinza bwa Mukama, bonna ne mbasaanyaawo. Banzingiza ku buli ludda, naye olw'obuyinza bwa Mukama, ne mbasaanyaawo. Banneetooloola ng'enjuki, era ne babuubuuka ng'omuliro ogw'omu maggwa. Olw'obuyinza bwa Mukama ne mbasaanyaawo. Bannumba n'amaanyi okumpangula, naye Mukama n'annyamba. Mukama ye ampa amaanyi, ye ansobozesa okuyimba, era ye andokola. Wulira amaloboozi ag'essanyu era ag'obuwanguzi mu lusiisira lw'abeesimbu. Amaanyi ga Mukama gakoze eby'obuzira. Amaanyi ga Mukama gawangudde, ddala gakoze eby'obuzira. Nze sijja kufa wabula okuba omulamu, mmanyise wonna Mukama by'akoze. Mukama ambonerezza nnyo, naye tampaddeeyo nfe. Munzigulirewo emiryango egy'ekifo ekitukuvu, nnyingire neebaze Mukama. Guno gwe mulyango gwa Mukama, abatuukirivu bokka be bayingiramu. Nnaakwebazanga, ayi Mukama, kubanga wanziramu n'ondokola. Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro. Ekyo Mukama ye yakikola, ne tukiraba, ne tukyewuunya. Luno lwe lunaku Mukama lwe yassaawo, kale tusanyuke, tujaguze ku lwaleero. Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole. Ayi Mukama, bye tukola biwe omukisa. Wa mukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. Tubasabira omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama. Mukama ye Katonda atuwa ekitangaala. Mukwate amatabi mu ngalo mukumbe, mwetooloole alutaari. Ggwe Katonda wange, era nkwebaza. Ggwe Katonda wange, nkutendereza. Kale mwebaze Mukama kubanga mulungi, n'ekisa kye kya mirembe gyonna. Ba mukisa abataliiko kamogo, abakolera ku mateeka ga Mukama. Ba mukisa abakuuma bye yalagira, abajja gy'ali n'omutima gwabwe gwonna, era abatakola bibi wabula abatambulira mu makubo g'abalaga. Ayi Mukama, watukuutira ebiragiro byo, tubituusenga n'obwesigwa. Singa nno nnyweredde mu kukwata ebiragiro byo! Singa nzisa omwoyo ku byonna bye walagira, sandikwatiddwanga nsonyi. Nnaakutenderezanga n'omutima omulongoofu, nga njize ennamula yo ey'obwenkanya. Nnaakwatanga amateeka go, nkwegayiridde tonjabuliranga. Kale omuvubuka anaakuumanga atya empisa ze? Nga yeegendereza, n'akolera ku biragiro byo. Nfuba okukuweereza n'omutima gwange gwonna, mponya okujeemera bye walagira. Ebigambo byo mbikuuma mu mutima gwange, nneme okwonoona mu maaso go. Otenderezebwe, ayi Mukama, onjigirize amateeka go. Njogera ne mmanyisa bye watukuutira byonna. Nsanyukira okugoberera amateeka go, okusinga okufuna ebyobugagga byonna. Njagala okwekkaanya ebiragiro byo, n'okulowoolereza ku by'okuutira. Nsanyukira amateeka go, sseerabirenga bigambo byo. Onkwatirwe ekisa nze omuweereza wo, mbeere mulamu, ŋŋonderenga ebiragiro byo. Zibula amaaso gange ndabe ebyewuunyisa ebiri mu mateeka go. Ku nsi ndi muyise buyise, tonkisa bye walagira. Omwoyo gwange gwegomba nnyo okumanya ennamula yo ennaku zonna. Onenya abeekulumbaza, abajeemera bye walagira bakolimiddwa. Omponye okuvumibwa n'okunyoomebwa kubanga nkuumye bye wakuutira. Abafuzi batuula ne banjogerako obubi, naye nze omuweereza wo, ndowoolereza ku mateeka go. Era bye wakuutira bye nsanyukira, era bye nneebuuzaako. Nze agalamidde mu nfuufu, onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza. Nayatula byonna bye nakola, n'onziramu. Onjigirize amateeka go. Ggwe nnyamba okutegeera amateeka go, ndyoke ndowoolerezenga ku by'okola ebyamagero. Nfa obuyinike, ggwe nzizaamu endasi nga bwe wasuubiza. Mponya okugoberera ekikyamu, naye olw'ekisa kyo, onjigirize amateeka go. Nnonzeewo okubeera omuwulize, ntadde omwoyo ku by'okuutira. Nkolera ku bye walagira, ayi Mukama, tondeka kuswala. Nnaatuukirizanga by'olagira, ng'onnyambye okubitegeera. Ayi Mukama onjigirize amateeka go nga bwe gagenda, nnaagakwatanga bulijjo. Mpa amagezi nkuumenga amateeka go, ngakwatenga n'omutima gwange gwonna. Nnyamba okukwatanga bye walagira, kubanga mu byo mwe nsanyukira. Mpa okwegomba okukwatanga ebiragiro byo, sso si kwettanira bya bugagga. Mponya okumalira omwoyo ku bitalina mugaso, naye ebigambo byo bimpe obulamu. Nyweza kye wasuubiza omuweereza wo, kye wasuubiza abakussaamu ekitiibwa. Mponya okuvumibwa kwe ntya, kubanga ennamula yo nnungi. Laba, njagala nnyo ebiragiro byo, ggwe omwenkanya, mpa obulamu. Ayi Mukama, ndaga ekisa kyo, era ondokole nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeeko ne kye nziramu abanvuma, kubanga neesiga ebigambo byo. Nsobozesa okwogeranga amazima bulijjo, kubanga nnina essuubi mu nnamula yo. Nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna, emirembe n'emirembe. Era nnaabeeranga mu ddembe, kubanga nfuba okukwata ebiragiro byo. Nnaategeezanga bakabaka amateeka go, nga sikwatibwa nsonyi. Nsanyuka okutuukiriza bye walagira, era mbyagala nnyo. Ebiragiro byo mbissaamu ekitiibwa era mbyagala. Nnaalowoolerezanga ku mateeka go. Jjukira kye wasuubiza nze omuweereza wo, ekyandeetera essuubi. Ne bwe nabonaabona nasanyuka, kubanga kye wasuubiza kyanzizaamu amaanyi. Abeekulumbaza bansekerera nnyo, naye ssaava ku mateeka go. Bwe nzijukira bye wakuutira edda, nsanyuka, ayi Mukama, Bwe ndaba ababi nga bava ku mateeka go, nkwatibwa nnyo obusungu. Mu bulamu bwange obuyita obuyisi, bye walagira bye nnyimbako ennyimba. Nkujjukira ekiro ayi Mukama, ne ŋŋondera amateeka go. Okukwata ebiragiro byo kwe nfudde essanyu lyange. Ayi Mukama, ggwe wange, nsuubiza okukwatanga ebiragiro byo. Nkwegayirira n'omutima gwange gwonna, onkwatirwe ekisa nga bwe wasuubiza. Bwe ntunuulira amayisa gange, nkyuka ne ngoberera bye wakuutira. Sseekunya, nnyanguwa okukwata bye walagira. Ababi ne bwe bantega emiguwa, sseerabira mateeka go. Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza olw'amateeka go amatuufu. Ndi mukwano gw'abo bonna abakussaamu ekitiibwa era ow'abo abakwata ebiragiro byo. Ayi Mukama, ekisa kyo kijjudde ensi, onjigirize bye walagira. Otuukiriza kye wasuubiza, ayi Mukama, ng'onkolera ebirungi nze omuweereza wo. Ompe amagezi n'okutegeera, kubanga neesiga ebiragiro byo. Nga sinnabonaabona nakuvangako, naye kaakano mpulira by'olagira. Oli mulungi, okola ebirungi, onjigirize amateeka go. Abeekulumbaza banjogerako eby'obulimba, naye nze nnywerera ku by'oyigiriza. Emitima gyabwe gyonoonese, naye nze nsanyukira amateeka go. Okubonaabona kwangasa, ne nsobola okwetegereza ebiragiro byo. Amateeka go gansingira zaabu ne ffeeza enkumi n'enkumi. Ggwe wantonda era ggwe onkuuma, mpa amagezi njige ebiragiro byo. Abakussaamu ekitiibwa bwe banandabanga, banaasanyukanga, kubanga neesiga kye wasuubiza. Mmanyi ayi Mukama, nti olamula mu mazima, era nga wambonereza kubanga oli mwesigwa. Nkwegayiridde, ggwe ow'ekisa onsanyuse, nze omuweereza wo, nga bwe wasuubiza. Nkwatirwa ekisa, ompe obulamu, kubanga nsanyukira amateeka go. Abeekulumbaza abampaayiriza baswale, naye nze nnaalowoolerezanga ku amateeka go. Abakussaamu ekitiibwa bajje gye ndi, bamanye bye walagira. Ntuukirize bulungi bye walagira, nnemenga okuswala. Ayi Mukama, nkooye nga nkulindirira okundokola, naye neesiga kye wayogera. Nkooye okutega amaaso nga nnindirira okulaba kye wasuubiza, nga bwe nneebuuza nti: “Olinsanyusa ddi?” Newaakubadde nfuuse ng'eddiba eritakyagasa, naye seerabira bye wasuubiza. Nze omuweereza wo ndigumiikiriza kutuusa ddi? Abanjigganya olibasalira ddi omusango? Abeekulumbaza abatagoberera mateeka go bansimidde obunnya mbugwemu. Byonna bye walagira byesigibwa. Banjigganya awatali nsonga, ggwe onnyamba. Kaabula kata bansaanyeewo ku nsi, naye saava ku biragiro byo. Olw'ekisa kyo, wonya obulamu bwange, ndyoke nkwatenga bye walagira. Ayi Mukama, ky'oyogera kibeerera, ne mu ggulu kiba kinywevu. Obwesigwa bwo bwa mirembe gyonna, wanyweza ensi obutasagaasagana. Ebintu byonna bikyaliwo nga bwe walagira, kubanga byonna ggwe biweereza. Singa amateeka go si ge gansanyusa, nandibadde nfudde bwe nabonaabona. Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna, kubanga by'ompeereddemu obulamu. Nze ndi wuwo, kale ggwe ndokola, kubanga nfuba okutuukiriza by'olagira. Ababi bannindiridde okunsaanyaawo, naye nze nnaalowoolerezanga ku biragiro byo. Ndabye ng'ebintu byonna birina we bikoma, naye ebiragiro byo tebirina kkomo. Amateeka go ngaagala nnyo, ngeebuulirirako okuzibya obudde. Ekiragiro kyo kiba nange bulijjo, ne kinfuula mugezi okusinga abalabe bange. Ntegeera okusinga abayigiriza bange bonna, kubanga ndowoolereza ku bye walagira. Ndi mugezi okusinga abakadde, kubanga nkwata ebiragiro byo. Neewala empisa embi zonna, ndyoke nkwatenga ky'ogamba. Siva ku biragiro byo, kubanga ggwe obinjigiriza. Ebigambo byo bimpoomera okusinga omubisi gw'enjuki. By'oyigiriza binfuula mugezi ne nkyawa empisa zonna ez'obulimba. Ekigambo kyo ye ttaala emmulisiza ekkubo nga ntambula. Nkakasizza nga ndayira okukwatanga amateeka go, agajjudde obwenkanya. Mbonaabona nnyo, ayi Mukama, onkuume nga ndi mulamu nga bwe wasuubiza. Ayi Mukama, siima bye nkuwa okukwebaza, era onjigirize by'olagira. Obulamu bwange buli mu kabi buli kaseera, naye seerabira mateeka go. Ababi banteze omutego, naye siva ku biragiro byo. Ebyo bye walagira gwe mugabo gwange ogw'olubeerera, era bye bisanyusa omutima gwange. Mmaliridde okutuukirizanga ebiragiro byo. Okutuusa lwe ndifa. Nkyawa abateesigwa, naye njagala amateeka go. Ggwe onkuuma era ggwe ontaasa, neesiga bye wasuubiza. Muve we ndi mmwe aboonoonyi, nze nkwata ebyo Katonda bye yalagira. Ompanirire nga bwe wasuubiza, mbe mulamu, tondeka kuswala nga nkwesize. Ompanirire mbe mirembe, nkwatenga amateeka go ennaku zonna. Onyooma bonna abava ku biragiro byo, ddala entegeka zaabwe ez'obulimba ziba za bwereere. Ababi bonna obayisa ng'ebisasiro, kyenva njagala ebiragiro byo. Nzenna nkankana olw'okukutya, era ntya okulamula kwo. Nkoze ebituufu era ebirungi, tondeka mu balabe bange. Suubiza okuyamba omuweereza wo, abeekulumbaza tobaleka kunnyigiriza. Nkooye okukanula amaaso nga nnindirira ondokole nga bwe wasuubiza, ggwe omwenkanya. Ondage ekisa kyo, era onjigirize by'olagira. Ndi muweereza wo, ompe okutegeera, ndyoke mmanye by'oyigiriza. Ayi Mukama, kye kiseera obeeko ky'okola, kubanga bamenya amateeka go. Njagala ebiragiro byo okusinga zaabu, wadde zaabu omulungi ennyo. Kyennaavanga ngoberera byonna by'olagira, era ne nkyawa eby'obulimba byonna. Bye walagira byewuunyisa, kyenva mbikuuma mu mutima gwange. Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa, biwa ekitangaala, bigeziwaza abatalina magezi. Njasamya akamwa kange ne mpeevuuma, olw'okuyaayaanira bye walagira. Kyukira gye ndi onkwatirwe ekisa, nga bw'okikwatirwa abakwagala. Onnuŋŋamyenga nga bwe wasuubiza, waleme kubaawo kibi kinfuga. Omponye abambonyaabonya, nsobole okukwata ebiragiro byo. Ontunuulize ekisa nze omuddu wo, era onjigirize amateeka go. Amaziga gange gakulukuta ng'omugga, kubanga abantu tebakwata mateeka go. Ayi Mukama, oli mutuukirivu, era amateeka go ga bwenkanya. Ebiragiro bye wawa bituufu, era byesigirwa ddala. Obusungu bumbugujja kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo. Kye wasuubiza kikakafu, nze omuweereza wo kyenva nkyagala. Nze siriiko bwe ndi era nnyoomebwa, naye seerabira biragiro byo. Obutuukirivu bwo bwa mirembe gyonna, era amateeka go matuufu bulijjo. Nzijiddwa emitawaana n'obuyinike, naye bye walagira binsanyusa. Bye walagira bituufu emirembe gyonna, ompe okutegeera mbe mulamu. Ayi Mukama, nkoowoola n'omutima gwange gwonna, onziremu, nnaakwatanga amateeka go. Nkukoowoola ondokole, ndyoke ntuukirizenga bye walagira. Nkeera nnyo ng'emmambya tennasala, ne nkusaba onnyambe. Neesiga kye wasuubiza. Ekiro kyonna nsula ntunula, nga ndowoolereza ku bye walagira. Olw'ekisa kyo ayi Mukama, owulire kye ŋŋamba nti kuuma obulamu bwange ggwe omwenkanya. Ababi abangigganya banfumbiikirizza, be bantu abatakwata mateeka go. Naye ggwe ondi kumpi, ayi Mukama, ebiragiro byo byonna bituufu. Okuva edda n'edda nayiga bye walagira, ne mmanya nti wabiteekawo nga bya mirembe gyonna. Laba obuyinike bwange, omponye, kubanga seerabira mateeka go. Ompolereze, onnunule, ompe obulamu nga bwe wasuubiza. Ababi tebalokolebwa, kubanga tebafa ku bye walagira. Ekisa kyo kingi, ayi Mukama, ompe obulamu ggwe omwenkanya. Abanjigganya n'abankyawa bangi, naye nze siva ku bye walagira. Ndaba ab'enkwe ne neetamwa, kubanga tebakwata biragiro byo. Ayi Mukama, laba bwe njagala bye walagira. Olw'ekisa kyo, kuuma obulamu bwange. Omulamwa gw'amateeka go ge mazima, byonna by'olagira bituufu era bya mirembe gyonna. Ab'obuyinza banjigganya awatali nsonga, naye nze nzisaamu ebiragiro byo ekitiibwa. Nsanyukira bye wasuubiza, ng'asanyukira eby'omunyago ebingi. Nkyawa era ntamwa obulimba, naye njagala amateeka go. Buli lunaku nkutendereza emirundi musanvu, olw'ennamula yo ey'obwenkanya. Abaagala amateeka go balina emirembe mingi, tebalina kye beesittalako. Ayi Mukama, nkulindirira ondokole, era ntuukiriza bye walagira. Nkwata ebiragiro byo era mbyagala nnyo. Ntuukiriza bye walagira ne bye wakuutira, era olaba byonna bye nkola. Okukaaba kwange kutuuse gy'oli, ayi Mukama, ompe okutegeera nga bwe wasuubiza. Wulira okwegayirira kwange, omponye nga bwe wasuubiza. Nnaakutenderezanga bulijjo, kubanga onjigiriza amateeka go. Nnaayimbanga bye walagira, kubanga ebiragiro byo bya bwenkanya. Bulijjo ba nga weetegese okunnyamba, kubanga nalondawo okukwatanga ebiragiro byo. Ayi Mukama, neegomba ondokole, era amateeka go ge gansanyusa. Ompe obulamu, nnaakutenderezanga, era ennamula yo ennyambenga. Mbutaabutana ng'endiga eyabula, onnoonye nze omuweereza wo, kubanga seerabira biragiro byo. Mu kunakuwala kwange, nkoowoola Mukama n'anziramu. Ayi Mukama, omponye aboogera eby'obulimba n'eby'obukuusa. Oliweebwa ki, era olibonerezebwa na ki ggwe ayogera eby'obukuusa? Olibonerezebwa n'obusaale obwogi obw'abazira, era n'amanda agengereredde. Nga zinsanze okubeera mu Bameseki ne mu Bakedari! Nga mbadde ekiseera kiwanvu mu bantu abakyawa emirembe! Nze njagala mirembe. Naye bwe njogera, bo baagala kulwana. Nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira ensozi. Obuyambi bwange buliva wa? Mukama ye annyamba, eyakola eggulu n'ensi. Talikuleka kugwa, akukuuma talisumagira. Ddala oyo akuuma Yisirayeli teyeebaka, wadde okusumagira. Mukama ye akukuuma, Mukama akuli ku lusegere okukutaasa. Enjuba terikwokya emisana, wadde omwezi ekiro. Mukama anaakuwonyanga buli kabi, n'akuuma obulamu bwo, n'akukuuma amagenda n'amadda, okuva kaakano n'okutuusa emirembe gyonna. Nasanyuka bwe baŋŋamba nti: “Tugende mu nnyumba ya Mukama.” Kaakano tuli wano, tuyimiridde mu miryango gya Yerusaalemu. Yerusaalemu kye kibuga ekyazimbibwa nga kigattiddwa awamu. Mu kyo ebika mwe bijja, ebika bya Mukama, okwebaza Mukama, nga Yisirayeli bwe yalagirwa. Mu kyo mwe mwateekebwa entebe ez'obulamuzi entebe ez'ab'ennyumba ya Dawudi. Musabire Yerusaalemu emirembe nti: “Babe ba mukisa abakwagala. Emirembe gibe mu bisenge byo ebikwetoolodde, n'omukisa gube mu mayumba agali mu ggwe.” Olwa baganda bange ne bannange, ŋŋamba Yerusaalemu nti: “Emirembe gibe mu ggwe!” Olw'ennyumba ya Mukama Katonda wange, nkusabira omukisa. Nnyimusiza amaaso gange gy'oli, ayi Mukama abeera mu ggulu. Ng'abaddu bwe batunuulira mukama waabwe, era ng'abazaana bwe batunuulira mugole waabwe naffe bwe tutunuulira ggwe, Mukama Katonda waffe, okutuusa lw'otukwatirwa ekisa. Tukwatirwe ekisa, ayi Mukama, tukwatirwe ekisa kubanga tunyoomebwa nnyo. Abali obulungi batuduulidde nnyo, era tunyoomebwa abeekulumbaza. Singa Mukama teyali ku ludda lwaffe, Yisirayeli eyogere kaakano, singa Mukama teyali ku ludda lwaffe, abantu bwe baatusitukiramu, banditumize tuli balamu, ng'obusungu bwe baatulinako bubuubuuka! Mukoka yanditwezeewo, amazzi ganditubisse. Amazzi agayira ganditusaanyizzaawo. Mukama yeebazibwe atatugabudde mu balabe baffe. Tuwonye omutego gw'omutezi. Omutego gukutuse ffe ne tuwona. Mukama ye atuyamba, eyakola eggulu n'ensi. Abeesiga Mukama bali ng'olusozi Siyooni, olutanyeenyezebwa, olubeerera ennaku zonna. Ng'ensozi bwe zeetoolodde Yerusaalemu, Mukama naye bw'atyo bwe yeetoolodde abantu be, okuva kaakano n'okutuusa emirembe gyonna. Ababi tebalifuga nsi ya balungi, sikulwa nga n'abalungi nabo bakola ebitasaana. Abalungi n'ab'emitima emirongoofu bakolerenga ebirungi, ayi Mukama. Naye abakwata ekkubo eryabwe, eritali ttuufu babonerereze wamu n'ababi Emirembe gibeere ku Yisirayeli. Mukama bwe yatuggya mu busibe n'atuzza mu Siyooni, twali ng'abaloota. Twasekereza ne tuyimba olw'essanyu, ab'amawanga amalala ne bagamba nti: “Mukama abakoledde ebikulu!” Ddala Mukama atukoledde ebikulu, kyetuvudde tusanyuka. Otuzzeeyo ayi Mukama, mu nsi yaffe, ng'enkuba bw'ezza amazzi mu migga egikaze. Abasiga nga bakaaba amaziga, bakungule nga basanyuka. Agenda akaaba ng'atwala ensigo, alikomawo ng'ayimba olw'essanyu, ng'aleeta ebinywa by'akungudde. Mukama bw'aba nga si ye azimba ennyumba, abagizimba bateganira bwereere. Mukama bw'aba nga si ye akuuma ekibuga, abakuumi okutunula batawaanira bwereere. Tekirina mugaso okuteganira kye munaalya, ne muzuukuka nga tebunnalaba, era ne mwebaka mu matumbi. Mukama b'ayagala abawa nga bali mu tulo. Okuzaala abaana kirabo kya Mukama, ddala kirabo kyennyini. Abaana omuntu b'azaala mu buvubuka, baba ng'obusaale mu mikono gy'omuzira. Wa mukisa alina obusaale ng'obwo obungi, bw'aliyomba n'abalabe be ku mulyango taliwangulwa. Bonna abassaamu Mukama ekitiibwa ne bakolera ku by'alagira, ba mukisa. Olirya ku bibala by'entuuyo zo, oliraba ebirungi, oliba wa mukisa. Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nnyumba yo. Abaana bo baliba ng'amatabi ag'omuti omuzayiti nga beetoolodde olujjuliro lwo. Ddala omuntu assaamu Mukama ekitiibwa bw'atyo bw'aliweebwa omukisa. Mukama akuwe omukisa ng'asinziira mu Siyooni, olabe Yerusaalemu bwe kikulaakulana, ennaku zonna ez'obulamu bwo. Owangaale olabe ku bazzukulu bo. Emirembe gibeere ku Yisirayeli. Yisirayeli agambe nti: “Okuva mu buto bwange, bambonyaabonyezza emirundi mingi. Okuva mu buto bwange bambonyaabonyezza emirundi mingi, naye ne batampangula. Banfumita ebiwundu mu mugongo, ne bagufuula ng'ennimiro ekabaliddwa. Naye Mukama mwenkanya; yakutula emiguwa gy'ababi.” Bonna abakyawa Siyooni bawangulwe bazzibwe emabega. Babe ng'omuddo ogumera waggulu ku nnyumba, ogukala nga tegunnakula. Oyo agukungula teguwezaamu lubatu, n'oyo agukuŋŋaanya taguwezaamu kiganda. Era abayitawo tebaligamba nti: “Mukama abawe omukisa. Tubawa omukisa mu linnya lya Mukama.” Ayi Mukama, nkuwanjagira nga nsinziira ebuziba. Ayi Mukama, wulira okukaaba kwange. Wuliriza bwe nsaba obuyambi. Ayi Mukama, singa otunuulira ebibi byaffe, ani atandisingiddwa musango? Naye ggwe otusonyiwa, tulyoke tukussengamu ekitiibwa. Nnindirira n'omutima gwange gwonna Mukama okunnyamba, era nneesiga ekigambo kye. Nnindirira Mukama okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya, ddala okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya. Yisirayeli weesigenga Mukama kubanga wa kisa, buli kiseera yeetegese okununula. Alinunula abantu ba Yisirayeli mu bibi byabwe byonna. Ayi Mukama, seekulumbaza, situnuza lwetumbu, siruubirira bikulu, wadde ebinsukkiridde. Wabula nteredde, nsirise ng'omwana bw'asirika, ng'ali ku kifuba kya nnyina. Ddala bwe ntyo nange bwe nteredde. Ggwe Yisirayeli, weesige Mukama okuva kaakano n'okutuusa emirembe gyonna. Ayi Mukama, jjukira Dawudi n'ebizibu bye yagumira byonna. Jjukira bwe yakulayirira, ayi Mukama, n'obweyamo bwe yakola gy'oli, Ggwe Ow'obuyinza, Katonda wa Yakobo: “Siriyingira mu nnyumba yange, wadde okulinnya ekitanda kyange, siryebaka wadde okusumagirako, okutuusa nga mmaze okuzuulira Mukama ekifo, ekifo kye Owoobuyinza Katonda wa Yakobo.” Essanduuko ey'Endagaano twagiwulirako mu Efurata, twagiraba mu nnimiro z'e Yaari. Tuyingire mu kisulo kya Mukama, tusinzize w'ateeka ebigere bye. Ayi Mukama, jjangu mu kifo mw'owummulira, obeeremu n'Essanduuko ey'Endagaano etegeeza obuyinza bwo. Bakabona bo bakolenga bulijjo ebyo ebituufu, n'abatukuvu bo bajaganye olw'essanyu. Olw'omuweereza wo Dawudi, togoba musiige wo. Mukama yalayirira Dawudi n'anyweza kye yasuubiza ky'atagenda kukyusaako: “Ndituuza omu ku batabani bo ku ntebe yo ey'obwakabaka. Abaana bo bwe banaakuumanga endagaano yange n'ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga, n'abaana baabwe banaasikiranga obwakabaka bwo emirembe gyonna.” Mukama yeeroboza Siyooni n'asiima okukibeerangamu: “Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga, wano we nsiimye okubeeranga bulijjo. Nnaawanga Siyooni byonna bye kyetaaga, abaavu baakyo nnaabakkusanga emmere. Bakabona baakyo ndibawa omukisa mu bye bakola byonna n'abatukuvu abakirimu banaajaganyanga olw'essanyu. Wano omu ku basika ba Dawudi we ndimufuulira kabaka omukulu. Wano we ndikuumira omumuli ogw'omusiige wange. Abalabe be ndibakwasa ensonyi. Kyokka ye engule ye eritemagana.” Ddala nga kirungi era kisanyusa abooluganda okuba awamu nga bakkaanya! Kiri ng'omuzigo ogw'omuwendo ogukulukutira ku mutwe ne ku kirevu kya Arooni, ne guserengetera ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Kiri ng'omusulo gw'oku Herumooni ogugwa ku busozi bwa Siyoon, Mukama gye yasinziira okulagira wabeewo omukisa: ogwo bwe bulamu obw'emirembe n'emirembe. Mujje mutendereze Mukama mmwe mwenna abaweereza be abaweereza mu nnyumba ye ekiro. Muyimuse emikono gyammwe nga mugyolekeza ekifo ekitukuvu mutendereze Mukama. Mukama eyakola eggulu n'ensi abawe omukisa ng'asinziira mu Siyooni. Mutendereze Mukama! Mwe abaweereza ba Mukama, mutendereze erinnya lye. Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama, mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe, mutendereze Mukama kubanga mulungi. Muyimbe erinnya lye kubanga wa kisa. Mukama yeeroboza aba Yakobo, abantu ba Yisirayeli okuba ababe. Mmanyi nga Mukama mukulu, mukulu okusinga balubaale bonna. Buli ky'ayagala akikola mu ggulu era ne mu nsi, n'ebuziba mu nnyanja. Ayimusa ebire ku njuyi zonna ez'ensi, aleeta okumyansa mu nkuba, n'afulumya embuyaga mu mawanika ge. Mu Misiri yatta abaggulanda, ab'abantu n'ebisolo. Eyo e Misiri yakolerayo ebyewuunyo n'ebyamagero okubonereza kabaka waayo n'abakungu be bonna. Yazikiriza amawanga mangi, n'atta bakabaka ab'amaanyi: Sihoni kabaka w'Abaamori, ne Ogi kabaka w'e Basani, ne bakabaka bonna ab'e Kanaani. Ensi yaabwe n'agiwa abantu be. Yagiwa Abayisirayeli bagyefuge. Erinnya lyo, ayi Mukama, lisigalawo ennaku zonna. onojjukirwanga emirembe gyonna. Mukama anaataasanga abantu be, anaasaasiranga abaweereza be. Balubaale b'amawanga, bifaananyi bya ffeeza ne zaabu, ebyakolebwa abantu. Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba. Birina amatu, naye tebiwulira, era tebissa mukka. Ababikola n'ababyesiga bafaanana nga byo. Mmwe abantu ba Yisirayeli, mutendereze Mukama. Mmwe ab'ennyumba ya Arooni, mutendereze Mukama. Mmwe ab'ennyumba ya Leevi, mutendereze Mukama. Mmwe abassaamu Mukama ekitiibwa, mumutendereze. Mukama abeera mu Yerusaalemu, atenderezebwe mu Siyooni. Mutendereze Mukama! Mwebaze Mukama kubanga mulungi, ekisa kye kya mirembe gyonna. 100:5; 106:1; 107:1; 118:1; Yer 33:11 Mwebaze Katonda afuga balubaale, ekisa kye kya mirembe gyonna. Mwebaze Mukama w'abakama, ekisa kye kya mirembe gyonna. Ye yekka akola ebyamagero ebikulu, ekisa kye kya mirembe gyonna. Eggulu yalikoza magezi, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yayaliira ensi ku mazzi, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yakola ebyaka ebikulu, ekisa kye kya mirembe gyonna, enjuba efugenga emisana, ekisa kye kya mirembe gyonna; omwezi n'emmunyeenye bifugenga ekiro, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yatta abaggulanda b'Abamisiri, ekisa kye kya mirembe gyonna; n'aggya Abayisirayeli mu Misiri, ekisa kye kya mirembe gyonna, n'omukono gwe omugolole ogw'amaanyi, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yayawula mu Nnyanja Emmyufu wakati, ekisa kye kya mirembe gyonna, n'ayisa Abayisirayeli wakati waayo, ekisa kye kya mirembe gyonna, naye n'asaanyizaamu kabaka w'e Misiri n'eggye lye, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yakulembera abantu mu ddungu, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yatta bakabaka ab'amaanyi, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yatta bakabaka abamanyifu, ekisa kye kya mirembe gyonna: Sihoni kabaka w'Abaamori, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna, ne Ogi kabaka wa Basani, ekisa kye kya mirembe gyonna. Ensi yaabwe n'agiwa abantu be, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yagiwa Abayisirayeli bagyefuge, ekisa kye kya mirembe gyonna. Yatujjukira bwe twawangulwa, ekisa kye kya mirembe gyonna. N'atuwonya abalabe baffe, ekisa kye kya mirembe gyonna. Awa emmere ebitonde byonna ebiramu, ekisa kye kya mirembe gyonna. Mwebaze Mukama ow'omu ggulu, ekisa kye kya mirembe gyonna. Kumpi n'emigga gy'e Babilooni gye twatuula ne tukaaba amaziga, bwe twajjukira Siyooni. Ne tuwanika ennanga zaffe, ku miti egiriraanyeewo, kubanga eyo abaatutwala mu busibe baatugamba okuyimba. Abatubonyaabonya baatulagira okusanyuka nti: “Mutuyimbire mu nnyimba za Siyooni.” Tuyinza tutya okuyimba oluyimba lwa Mukama mu nsi eteri yaffe? Bwe nkwerabira ggwe Yerusaalemu, omukono gwange ogwa ddyo gukalambale. Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange, bwe siikujjukirenga era bwe siikwagalenga okusinga byonna ebinsanyusa. Ayi Mukama, jjukira aba Edomu kye baakola ku lunaku Yerusaalemu lwe kyawambibwa, bwe baagamba nti: “Mukisaanyeewo, mukisaanyeewo n'emisingi gyakyo!” Ggwe Babilooni oli wa kuzikirizibwa. Wa mukisa akusasula bye watukola. Wa mukisa alikwata abaana bo abato n'abafuntula ku lwazi! Ayi Mukama, nkwebaza n'omutima gwange gwonna, nnyimba ne nkutendereza mu maaso ga balubaale. Nnaasinzanga nga ntunuulidde Essinzizo lyo ettukuvu, ne nkwebaza olw'ekisa kyo n'olw'obwesigwa bwo, kubanga wagulumiza erinnya lyo n'ekigambo kyo okusinga ebirala byonna. Ku lunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula, wannyongeramu amaanyi n'oŋŋumya. Bakabaka bonna ab'ensi balikutendereza, ayi Mukama, kubanga bawulidde bye wayogera. Baliyimba ku by'okola, ne bagamba nti: “Ekitiibwa kya Mukama nga kinene!” Wadde Mukama asukkulumye, kyokka alowooza ku beetoowaze; Wabula abeekulumbaza, abeesamba. Ne bwe mbeera mu buyinike, onkuuma nga ndi mulamu. Olwanyisa abalabe bange abasunguwadde, n'omponya n'amaanyi go. Ayi Mukama olituukiriza bye wasuubiza kubanga ekisa kyo kya mirembe gyonna. Tosuulirira mulimu gwe watandika. Ayi Mukama, wannekkaanya n'ommanya. Bwe ntuula oba bwe nsituka omanya, ne bye ndowooza obimanyira wala. Bwe ntambula oba bwe neebaka, ontunuulira, buli kye nkola okimanya. Ne bwe mba nga sinnayogera, kye nnaayogera oba wakitegedde dda. Onneetoolodde ku njuyi zonna, onkuuma n'amaanyi go. Okumanya kw'ommanyiimu kwewuunyisa, kunsukkiridde, siyinza kukutegeera. Nnaalaga wa okukwekweka Ggwe? Naddukira wa gy'otoli? Singa nninnya mu ggulu, gyoli. Singa nneeyalira emagombe, gyoli. Ne bwe mbuuka ne ntuuka ebuvanjuba, ne bwe nsomoka amayanja ne mpisa ebugwanjuba, n'eyo obeerayo okunkulembera, obeerayo okunnyamba. Ne bwe nsaba enzikiza okunkweka, oba ekitangaala ekinneetoolodde kifuuke ekiro, n'enzikiza yennyini ggwe w'oli teba nkwafu, n'ekiro kitangaala ng'emisana. Ku ggwe enzikiza n'ekitangaala biba kye kimu. Ggwe watonda ebitundu byange byonna, ggwe wammumba mu nda ya mmange. Nkutendereza kubanga nakolebwa mu ngeri etiisa era eyeewuunyisa. Ekyo nkimanyidde ddala. Amagumba gange ogamanyi bulungi, n'engeri gye nabumbirwa mu kyama nga ntonderwa wansi mu ttaka. Wandaba nga sinnazaalibwa. Ennaku ezampeebwa, zonna waziwandiika mu kitabo nga tezinnaba na kutandika. Ayi Katonda, nga nkaluubirirwa okumanya ebirowoozo byo, era nga bingi nnyo! Singa mbibala, bisinga omusenyu obungi. Bwe nzuukuka mba nkyali wamu naawe. Ayi Katonda, njagala otte ababi, n'abaagala okuyiwa omusaayi banveeko. Bakwogerako bubi, abalabe bavuma erinnya lyo. Ayi Mukama, nkyawa abakukyawa, ntamwa abakulwanyisa. Mbakyayira ddala, mbayita balabe bange. Nkebera ayi Katonda, omanye omutima gwange. Ongeze, omanye ebirowoozo byange. Laba oba nga ndimu ebibi, onkulembere mu kkubo ery'olubeerera. Ayi Mukama, mponya abantu ababi, ontaase abatemu. Bayiiya eby'ettima mu mitima gyabwe, teboosa kusiikuula ntalo. Ennimi zaabwe bazisongoza ng'ez'emisota, akamwa kaabwe kalimu obusagwa ng'obw'essalambwa. Ayi Mukama, mponya abantu ababi, ontaase abatemu. Abeekulumbaza banteze omutego, baaliiridde ekitimba, ne bakitega mu kkubo. Ŋŋamba Mukama nti: “Ggwe Katonda wange.” Wulira okukaaba kwange, ayi Mukama, onnyambe. Ayi Mukama, Mukama wange, omuyambi wange ow'amaanyi, ggwe onkuumye mu lutalo. Ayi Mukama, ababi tobawa bye baagala, tobakkiriza kutuukiriza bye bategeka. Abalabe bange baleme kuwangula, eby'okutiisatiisa bye boogera bibaddire. Amanda agengeredde gagwe ku bo, bagwe mu bunnya obuwanvu, baleme kubuvaamu. Awaayiriza abalala abulweko w'abeera mu nsi; omutemu, ebibi bye bimuyiggenga okumuzikiriza. Mmanyi nga Mukama ataasa ababonyaabonyezebwa, era alwanirira abanaku. Ddala abenkanya balikutendereza, abatuukirivu balibeera mu maaso go. Ayi Mukama, nkukoowoola, yanguwa okujja gye ndi, ompulire nga nkukoowoola. Okwegayirira kwange, kunyooke okutuuka gy'oli ng'obubaani, n'okugolola emikono gyange kube ng'ekitambiro eky'akawungeezi. Ayi Mukama, kuuma akamwa kange, owumbe emimwa gyange. Tondeka kwagala kukola kibi wadde okwetaba n'abakola ebibi, era nnemenga kwegatta nabo mu kulya embaga zaabwe. Omuntu omulungi ambonereze oba annenye n'ekisa. Naye sikkiriza kitiibwa ekimpeebwa abantu ababi, kubanga bulijjo nnwanyisa ebikolwa byabwe ebibi, nga nsaba Katonda. Abafuzi baabwe bwe balisuulibwa wansi nga bawanulwa ku njazi empanvu, abantu lwe balimanya ebigambo byange bwe biri eby'amazima. Amagumba gaabwe galisaasaanyizibwa ku mulyango gw'emagombe ng'ettaka eritemeddwa amavuunike ne gakubibwa. Ayi Mukama Katonda, nze ntunuulira ggwe, era neesiga ggwe. Tondeka nga siriiko anannyamba. Ontaase emitego gye banteze, n'ebitimba by'ababi. Ababi bagwe mu bitimba byabwe, naye nze mpone. Nkoowoola Mukama, mmwegayirira annyambe. Mmwanjulira ebinnuma byonna, mmulaga obuyinike bwange. Bwe mba nnaatera okuterebuka, ye amanya kye nteekwa okukola. Mu kkubo mwe mpita, bantezeemu omutego. Bwe ntunula ku mabbali ndaba nga tewali anfaako. Tewali gye nzirukira, tewali n'omu annumirwa. Ayi Mukama, nkoowoola ggwe, ne ŋŋamba nti ggwe kiddukiro kyange, ggwe mugabo gwange mu bulamu buno. Wulira okukaaba kwange, kubanga njeezebwa nnyo. Omponye abanjigganya, kubanga bansinga amaanyi. Onzigye mu kkomera ndyoke nkwebaze ng'abantu bo banneetoolodde, olw'ebirungi by'onkoledde. Ayi Mukama, wuliriza okusaba kwange, wuliriza okwegayirira kwange, onziremu, kubanga oli mwesigwa era mwenkanya. Leka kuwozesa muweereza wo, kubanga teri mulamu aba mutuufu mu maaso go. Omulabe anjigganyizza, ampangulidde ddala, n'anteeka mu kizikiza, ne mba ng'abaafa edda. Kyenvudde nterebuka, ne nzigweramu ddala amaanyi. Nzijukira ennaku ez'edda, ndowoolereza byonna bye wakola, nfumiitiriza ebikolwa byo, ne nsitulira gy'oli emikono gyange. Omwoyo gwange gukulumirwa ennyonta, ng'ensi erakasidde. Ayi Mukama, yanguwa okunziramu, nzigwamu amaanyi. Tonneekweka, nneme kuba ng'abo abakkirira emagombe. Ombuulire eby'ekisa kyo buli nkya, kubanga neesiga ggwe. Ondagirire ekkubo lye mba nkwata, kubanga nnyimusiza omwoyo gwange gy'oli. Nzirukira gy'oli, ayi Mukama, omponye abalabe bange. Onjigirize okukola by'oyagala, kubanga ggwe Katonda wange. Ggwe ow'omwoyo omulungi, onnuŋŋamye mu kkubo eggolokofu. Ayi Mukama, kuuma obulamu bwange nga bwe wasuubiza. Nga bw'oli omulungi, onzigye mu buyinike. Nga bw'onkwatirwa ekisa, zikiriza abalabe bange, omalewo bonna abambonyaabonya, kubanga ndi muweereza wo. Mukama ankuuma era anjigiriza eby'entalo n'anteekateeka okulwana, atenderezebwe. Ye ankuuma, ye w'amaanyi antaasa. Ye Mulokozi wange, Ye antaasa ng'engabo, era kye kiddukiro kyange, Ye awangula amawanga ngafuge. Ayi Mukama, omuntu ataliiko bw'ali, lwaki omufaako? Era omuntu obuntu, lwaki omulowoozaako? Ali ng'omukka obukka ennaku ze kisiikirize ekiyita obuyisi. Ayi Mukama, kutamya eggulu lyo okke, kwata ku nsozi, zinyooke omukka. Leeta okumyansa, abalabe bo obasaasaanye. Lasa obusaale bwo obalinnimule. Golola omukono gwo ng'osinziira mu ggulu, omponye, onzigye mu mazzi amangi. Onzigye mu buyinza bwa bannamawanga abatayogera mazima era abalayira eby'obulimba. Nnaakuyimbira oluyimba oluggya, ayi Katonda, ku nnanga ey'enkoba ekkumi. Ggwe awa bakabaka obuwanguzi, ggwe awonya Dawudi omuweereza wo, omponye okuttibwa abalabe abakambwe. Onzigye mu buyinza bwa bannamawanga, abatayogera mazima era abalayira eby'obulimba. Batabani baffe bakule bulungi ng'ebimera, mu buvubuka bwabwe. Bawala baffe babe ng'empagi engolokofu okuzimbirwa olubiri. Amawanika gaffe gajjule ebikungulwa ebya buli ngeri. Endiga mu malundiro gaffe zizaale nkumi na nkumi. Ente zaffe zizaale bulungi, zireme kuvaamu mawako wadde okufiisa. Waleme kubaawo kutema miranga mu nguudo zaffe. Eggwanga lya mukisa eririna ebiri ng'ebyo. Ba mukisa abasinza Mukama nga ye Katonda waabwe. Nnaakugulumizanga, ayi Katonda wange era Kabaka wange, nnaakutenderezanga emirembe gyonna. Nnaakwebazanga buli lunaku, nnaakutenderezanga emirembe gyonna. Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo, obukulu bwe tebumalikayo. Ab'omulembe ogumu banaatenderanga ab'omulembe oguddirira bye wakola, banaatenderezanga ebikolwa byo eby'amaanyi. Nnaalowoolerezanga ku kitiibwa ekinene eky'obukulu bwo, ne ku bye wakola ebyewuunyisa. Abantu banaayogeranga ku by'entiisa by'okola, nange nnaamanyisanga obukulu bwo. Banaanyumyanga ku bulungi bwo obungi obumanyiddwa, ne bayimba ku butuukirivu bwo. Mukama wa kisa era musaasizi, alwawo okusunguwala, era asonyiwa nnyo. Mukama akolera bulungi bonna, era akwatirwa ekisa byonna bye yakola. Ebitonde byo byonna binaakutenderezanga, ayi Mukama, n'abantu bo bonna banaakwebazanga. Banaayogeranga ku kitiibwa ky'obwakabaka bwo, banaanyumyanga ku buyinza bwo, abantu bonna bamanye eby'amaanyi by'okola, n'ekitiibwa ky'obukulu bw'obwakabaka bwo. Obwakabaka bwo si bwa kuggwaawo, oli mufuzi emirembe gyonna. Mukama mwesigwa mu by'asuubiza, era wa kisa mu byonna by'akola. Mukama awanirira bonna abagwa, n'ayimusa abagudde. Ebiramu byonna bitunuulira ggwe n'obiwa emmere buli lwe bigyetaaga. Obigabira nga bwe byetaaga, byonna n'obikkusa. Mukama mutuufu mu byonna by'akola, era wa kisa mu bikolwa bye byonna. Aba kumpi n'abo bonna abamukoowoola, abamukoowoola mu mazima. Abamussaamu ekitiibwa abakolera kye baagala, era awulira okukaaba kwabwe n'abalokola. Akuuma bonna abamwagala, naye asaanyaawo ababi bonna. Nnaatenderezanga Mukama, era emirembe gyonna ebitonde bye byonna bitenderezenga erinnya lye ettukuvu. Mutendereze Mukama. Ggwe mwoyo gwange, tendereza Mukama. Nnaatenderezanga Mukama obulamu bwange bwonna, nnaayimbanga okumutendereza nga nkyali mulamu. Temwesiganga bafuzi, temwesiganga muntu n'omu, kubanga talina ky'ayinza kuyamba. Omukka bwe gumuggwaamu, ng'adda mu ttaka mwe yava. Olwo bye yategekanga nga bizikirira. Wa mukisa ayambibwa Katonda wa Yakobo, era asuubira mu Mukama Katonda we, eyatonda eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebibirimu byonna, kubanga Mukama akuuma obwesigwa ennaku zonna. Abo abanyigirizibwa abasalira omusango mu bwenkanya, abayala n'abawa emmere. Mukama asumulula abasibe, azibula amaaso ga bamuzibe. Ayimusa abagudde, ayagala abalungi. Mukama akuuma bannaggwanga, ayamba bannamwandu ne bamulekwa, naye azikiriza ebikolwa by'ababi. Mukama anaafuganga ennaku zonna. Ggwe Siyooni, Katonda wo anaafuganga emirembe n'emirembe. Mutendereze Mukama. Kirungi okuyimba nga tutendereza Katonda waffe, kubanga wa kisa era agwana okutenderezebwa. Mukama addamu okuzimba Yerusaalemu, akuŋŋaanya Abayisirayeli abaasaasaana. Awonya ab'emitima egimenyese, era asiba ebiwundu byabwe. Ye amanyi obungi bw'emmunyeenye, zonna n'aziwa amannya gaazo. Mukama waffe mukulu era wa buyinza, n'amagezi ge tegaliiko kkomo. Mukama ayimusa abeetoowaze, n'anyigiriza wansi ababi. Muyimbire Mukama nga mumwebaza, muyimbire ku nnanga nga mumutendereza. Abikka ebire ku ggulu, ateekerateekera ensi enkuba, ameza omuddo ku nsozi. Awa ebisolo emmere yaabyo, ne binnamuŋŋoona ebito ebikaaba. Essanyu lye teriri mu maanyi ga mbalaasi, wadde mu ggye eritambuza ebigere. Wabula yeesiimira mu abo abamussaamu ekitiibwa, ne mu beesiga ekisa kye. Yerusaalemu tendereza Mukama, Siyooni tendereza Katonda wo, kubanga anyweza ebisiba enzigi zo, abakulimu abawa omukisa. Aleeta emirembe ku nsalo zo, akukkusa eŋŋaano ekira obulungi. Aweereza ekiragiro kye ku nsi, ky'alagira ne kikolebwa mangu. Atonnyesa omuzira ogutukula obulala, asansa omusulo ng'evvu. Aweereza amayinja g'omuzira ng'obukunkumuka. Ani ayinza okugumira obutiti bwe? Ate bw'alagira n'abisaanuusa. Akunsa embuyaga, amazzi ne gakulukuta. Ekigambo kye akibuulira aba Yakobo, amateeka n'ebiragiro bye abimanyisa Abayisirayeli. Ekyo takikoleranga mawanga malala, tagamanyisanga biragiro bye. Mutendereze Mukama! Mutendereze Mukama. Mutendereze Mukama nga musinziira mu ggulu. Mumutendereze mmwe abali eyo waggulu. Mmwe bamalayika be mwenna mumutendereze, mmwe eggye lye mwenna mumutendereze. Mmwe enjuba n'omwezi mumutendereze; mmwe emmunyeenye zonna ezaaka, mumutendereze. Ggwe eggulu erisinga okutumbiira, mutendereze. Amazzi agali waggulu w'eggulu, gamutendereze. Byonna bitendereze erinnya lya Mukama, kubanga yalagira ne bikolebwa. Yabiteekako etteeka eritakyuka, n'abinyweza emirembe gyonna. Mmwe abali ku nsi mutendereze Mukama. Mmwe ebikulejje eby'omu nnyanja, nammwe ebifo eby'eddubi mu gayanja, omuliro n'omuzira, ggwe kalenge n'omusulo, omuyaga ogutuukiriza ekiragiro kye, mumutendereze. Mmwe ensozi n'obusozi bwonna, emiti egy'ebibala n'emivule gyonna, ensolo zonna, enfuge n'ez'omu ttale, ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka, mumutendereze. Mmwe bakabaka b'ensi nammwe amawanga gonna, abakungu n'abafuzi mwenna ab'ensi, mmwe abavubuka abalenzi n'abawala, abakadde n'abaana abato, mumutendereze. Bonna batendereze erinnya lya Mukama, kubanga lye lyokka erigulumizibwa. Ekitiibwa kye kisukkiridde ensi n'eggulu. Eggwanga lye yalifuula lya maanyi abantu be bonna kyebava bamutendereza, be Bayisirayeli, abamuli okumpi. Mutendereze Mukama. Mutendereze Mukama! Mumuyimbire oluyimba oluggya, mumutenderereze abeesigwa be we bakuŋŋaanidde. Yisirayeli sanyuka olw'ebyo Omutonzi wo by'akola. Abantu b'e Siyooni musanyukire Kabaka wammwe. Mutendereze erinnya lye nga muzina, nga muyimbira ku ŋŋoma ne ku nnanga, kubanga Mukama asanyukira abantu be, agulumiza abeetoowaze ng'abawa obuwanguzi. Abamwesiga bajaguze kubanga bawangudde; bayimbe olw'essanyu, ku buliri bwabwe. Bayimbe nnyo nga batendereza Katonda, nga bakutte ebitala ebyogi mu ngalo, okuwoolera eggwanga ku mawanga, n'okubonereza abantu; okusiba bakabaka n'enjegere, abakungu baabwe n'empingu, balyoke batuukirize ensala y'omusango eyabateekerwawo. Ekyo kye kitiibwa ky'abeesigwa be. Mutendereze Mukama! Mutendereze Mukama. Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu, mutendereze amaanyi ge mu ggulu. Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi, mumutendereze olw'obukulu bwe obutuukirivu. Mumutendereze mu ddoboozi ery'eŋŋombe, mumutendereze mu ndere ne mu nnanga. Mumutendereze mu ŋŋoma ne mu kuzina, mumutendereze mu bivuga eby'enkoba n'amakondeere. Mumutendereze mu nsaasi ezivuga ennyo, mumutendereze mu nsaasi ezisaala. Ebiramu byonna bitendereze Mukama. Mutendereze Mukama. Zino ze ngero za Solomooni mutabani wa Dawudi, era kabaka wa Yisirayeli. Ziyamba abantu okufuna amagezi n'okuyigirizibwa, n'okutegeera ebigambo eby'amakulu amakusike. Ziyigiriza amagezi ag'okukola ebituufu, n'okusala ensonga mu bwenkanya, n'okuba abeesimbu. Ziyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu, ziwa abavubuka okumanya n'okutegeera. Omugezi bw'aziwulira, yeeyongera okuyiga, era zibuulirira abategeevu, ne beeyongera okutegeera amakulu g'engero agoomunda, n'ebigambo ebyogerwa abakugu. Mu kutya Mukama, okumanya mwe kusookera. naye abasiru banyooma amagezi, era tebaagala kuyiga. Mwana wange, wulira kitaawo by'akuyigiriza, era tova ku ebyo nnyoko by'akukuutira. Birungiya empisa zo, ng'ekiremba ky'oku mutwe n'emikuufu gy'omu bulago, bwe biwoomera abirina. Ababi bwe bakusendasendanga, mwana wange, tokkirizanga. Singa bagamba nti: “Jjangu tuyite ffenna, tuteegeyo gwe tunatta, tugwikirize abataliiko musango, tubalumbe awatali nsonga, tubafuukire amagombe tubamire, basaanewo ng'abakka mu bunnya. Tuneezuulira ebintu eby'omuwendo ennyo, tujjuze amayumba gaffe omunyago. Jjangu otwegatteko naawe, tugabanire wamu ebibbe.” Mwana wange togezanga n'oyita nabo, era tobeesemberezanga, kubanga tewaliyita bbanga nga tebannakola bya mbyone. Tebalirwa kuyiwa musaayi. Ekitimba otegera bwereere, ng'ennyonyi gy'otega ekulaba. Naye abantu ng'abo, bateega bulamu bwabwe bwennyini, era be bafiira mu nkwe zaabwe. Bwe kityo bwe kiba ku buli afuna eby'obunyazi: ababifuna, biribatta. Amagezi galeekaanira mu nguudo, gakoowoolera mu bifo ebyalukale. Googera n'eddoboozi ery'omwanguka awayingirirwa mu kibuga, n'abangi we bakuŋŋaanira. Ne gagamba nti: “Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagala obutamanya? Nammwe abanyoomi mulituusa wa okusanyukira obunyoomi? Era nammwe abasiru mulituusa wa okukyawa okumanya? Musseeyo omwoyo ku bye mbanenya. Era nja kubabuulirira, mbamanyise ekindi ku mwoyo, mbagabanyize ku bye mmanyi. Mbayise ne mugaana okujja. Mbawenyezzaako n'omukono, ne wataba afaayo. Temuwulirizza bye mbabuulirira, temwagadde mbanenye n'akatono. Kale nange bwe mulikaaba, ndiseka; ndikudaala nga muli mu ntiisa. Entiisa bw'eribajjira ng'omuyaga, akabi ne kabeetooloola ng'embuyaga ey'akazimu, obuyinike n'obulumi ne bibagwira, olwo mulimpanjagira, naye siribaddamu; mulinnoonya, naye temulinzuula, kubanga mwakyawanga okumanya, era temwalondawo kutya Mukama. Temwayagalanga mbabuulirire n'akatono, temwakkirizanga mbanenyeeko n'akamu. Kyemuliva mufuna empeera egwanira bye mwakola, mulyoke mwetamwe enkwe zammwe, kubanga ekitta ababuyabuya, kuva ku bituufu; n'ekizikiriza abasiru, buteefiirayo. Naye buli awuliriza bye ŋŋamba, anaabanga mirembe, era anaatereeranga nga tewali kabi k'atya.” Mwana wange, singa ossa omwoyo ku bye nkuyigiriza, n'oteerabiranga bye nkulagira okukola; n'owuliranga ebigambo eby'amagezi, era n'ofubanga okubitegeera; n'osabanga ofune amagezi, ne weegayiriranga oweebwe okutegeera; amagezi n'oganoonyanga ng'anoonya ffeeza, era ng'awenja ebyobugagga ebyakwekebwa, olwo olitegeera okutya Mukama, n'ovumbula okumanya Katonda, kubanga Mukama ye agaba amagezi, ye atuwa okumanya n'okutegeera. Amagezi amatuufu agaterekera abalongoofu, n'akuuma abeewala okwonoona, alyoke akuume obwenkanya, alabirire abo abakola by'ayagala. Bw'ossa omwoyo ku bye nkutegeeza, olimanya ebituufu n'eby'amazima, n'eby'obwenkanya. Olimanya by'osaanidde okukola. Olifuuka mugezi, okumanya ne kukusanyusa. Okuteesa obulungi kunaakulabiriranga, n'okutegeera kukukuumenga, kukuwonyenga okukola ebitasaana, era kukuwonyenga abo aboogera ebitabula abantu. Kubakuwonyenga abo abavudde ku kukolanga ebituufu, ne badda mu kukolanga ebibi, abasanyuka okwonoona, era abaaniriza ebikolwa by'abantu aboonoonefu. Bo bantu abakyukakyuka, era abatayinza kwesigika. Olisobola okuwona omukazi ow'empisa embi, agezaako okukusendasenda n'akalimi akawoomerevu. Omukazi ow'engeri eyo, aleka bba gwe yafumbirwa mu buvubuka, ne yeerabira Katonda bye yalagira. Kale okugenda ku nnyumba ye, kuba kugenda magombe. Ekkubo erigenda ewuwe, likutwala mu bafu. Abamukyalira tebadda, tebakomawo mu kkubo ery'obulamu. Kale goberera ekyokulabirako eky'abantu abalungi, okwatenga empisa z'abakola ebituufu, kubanga ab'omwoyo omulongoofu be banakkaliranga mu nsi; abataliiko kamogo, be baligisigalamu. Naye Katonda alimalawo ababi mu nsi, n'aboonoonyi balisimbulibwamu. Mwana wange, teweerabiranga bye nkuyigiriza, naye okwatanga bye nkulagira okukola, lw'oliwangaala emyaka emingi, n'oba mu bulamu obw'emirembe. Tovanga ku mazima ne ku bwesigwa. Bisibenga mu bulago bwo, biwandiikenga ku mutima gwo. Olwo olisiimibwa era n'oyagalibwa Katonda n'abantu. Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna, teweesiganga kutegeera kwo. Gonderanga Mukama mu byonna by'okola, anaakulaganga ky'osaanye okukola. Teweefuulanga mugezi. Otyanga Mukama, n'ova mu bibi. Ekyo kye kinaabanga eddagala eriwonya ebiwundu byo, era erikkakkanya obulumi bwo. Ossangamu Mukama ekitiibwa ng'omutonera ku bibyo, owangayo ebisinga obulungi ku by'okungula byonna; amawanika go lwe ganajjulanga by'obazizza, n'amasogolero go ne gajjula omwenge omusu. Mwana wange, Mukama by'akubuulirira tobinyoomanga, era teweetamwanga ng'akunenyezza, kubanga Mukama b'ayagala abakangavvula, ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala. Wa mukisa oyo aba n'amagezi, wa mukisa afuna okutegeera, kubanga bya muwendo okusinga ffeeza, bya magoba okusinga zaabu. Amagezi ga muwendo okusinga amayinja ag'omuwendo. Tewali kye weegomba, ky'oyinza kugeraageranya ku go. Amagezi gakuwangaaza, ne gakuwa obugagga n'ekitiibwa. Amagezi gakuwa obulamu obweyagaza, n'obubeeramu ng'oli mirembe. Abafuna amagezi, bafuna obulamu; abaganywereramu beesiimye. Mukama ensi eno yagitondesa magezi, n'eggulu yaliwangisa kutegeera. Amagezi ge, ge gaakulukusa emigga, ne gatonnyesa n'enkuba ku nsi. Mwana wange, weekwatenga ku magezi amatuufu n'okugoba ensonga; tobiganyanga kukuvaako. Birikuwa obulamu, ne binyiriza embeera yo. Olwo olitambula bulungi mu lugendo lwo, ng'ekigere kyo tewali we kyekoona. Bw'onoogalamiranga okwebaka, tootyenga. Oneebakanga otulo ne tukuwoomera. Teweeraliikirirenga kugwibwako bubenje, wadde okuzikirira okujjira ababi, kubanga Mukama ye anaakukuumanga n'atakuleka kugwa mu kitimba. Buli lw'oba osobola, tommanga buyambi bantu babusaanidde. Togambanga muliraanwa wo nti: “Kati genda, okomewo enkya,” ng'osobola okumuyamba olwaleero. Tokolanga ntegeka kukola munno kabi ng'ali naawe mirembe. Toyombanga na muntu awatali nsonga, awatali kabi k'akukoze. Tokwatirwanga buggya oyo anyigiriza abalala, era tosalangawo kukola nga ye by'akola, kubanga Mukama akyawa abakola ebibi, naye abalongoofu b'amanyisa ekyama kye. Mukama akolimira amaka g'ababi, naye ag'abalungi agawa omukisa. Abeemanyi bokka abanyooma, naye abeetoowaze abakwatirwa ekisa. Abagezi balifuna ekitiibwa, naye abasiru balyeyongera kuswazibwa. Abaana, muwulirize kitammwe by'abayigiriza. Mubisseeko omwoyo, mulyoke mube n'okutegeera, kubanga bye mbawa birungi. Temuvanga ku bye mbayigiriza. Bwe nali nkyali mulenzi muto, nali muganzi ewa kitange ne mmange. Era kitange yanjigirizanga n'aŋŋamba nti: “Jjukiranga bye ŋŋamba, tobyerabiranga. Kolanga bye nkulagira, oliwangaala. Funa amagezi n'okutegeera. Teweerabiranga wadde okulagajjalira bye ŋŋamba. Tovanga ku magezi, ganaakukuumanga; ogaagalanga, ganaakubeezangawo mirembe. Amagezi, kye kintu ekisinga obukulu. Kale funanga amagezi; era mu byobugagga bwo byonna, beeranga n'okutegeera. Yagalanga amagezi, galikufuula mukulu. Gawambaatirenga, galikuweesa ekitiibwa. Galikutikkira engule ey'ebimuli, engule erikuweesa ekitiibwa.” Wulira mwana wange era okkirize bye ŋŋamba, lw'oliwangaala emyaka emingi. Nkuyigirizza eby'amagezi, nkulaze ekkubo ettuufu. Tewali kineekiikanga mu kkubo mw'otambulira, era teweekoonenga ng'odduka. By'oyize tobirekanga, bikuumenga. Bikwatenga, kubanga bwe bulamu bwo. Ekkubo ly'ababi tolikwatanga, era toyitanga na boonoonyi. Ekkubo lyabwe lyesambenga. Lyewalenga, okwatenga liryo ogende, kubanga tebeebaka nga tebamaze kukola bya ffujjo. Otulo tebatufuna, nga tebalina gwe basudde mu kibi. Bawoomerwa kukola bibi na kwonoona, nga bwe bawoomerwa emmere n'omwenge. Naye ekkubo abalungi mwe bayita, lyaka ng'enjuba etandiikiriza okuvaayo, egenda nga yeeyongera okwaka okutuuka mu ttuntu. Ekkubo ly'ababi liri nga kazigizigi wa nzikiza. Beesittala ne bagwa, nga tebamanyi kye beesittaaddeko. Mwana wange, ssaayo omwoyo ku bigambo byange, wuliriza bulungi bye ŋŋamba. Toyawukananga nabyo, era bikuumenga mu mutima gwo, kubanga ababizuula, bibawa obulamu, era biwonya omubiri gwabwe gwonna endwadde. Weegenderezenga endowooza yo, kubanga obulamu bwo, bufugibwa ebyo by'olowooza. Toyogeranga bya bulimba, weewalenga ebiwubisa abalala. Tunulanga n'obwesige mu maaso gy'olaga, tomagamaganga. Bulijjo malanga kweteesa, nga tonnabaako ky'okola, by'okola byonna lwe binaalamanga. Weewale ebibi, otambulire mu kkubo ettuufu. Towunjawunjanga kulivaamu. Mwana wange, ssaayo omwoyo, owulirize amagezi gange n'okwetegereza kwange, olyoke omanyenga engeri y'okuyisaamu, era ebigambo byo biryoke biragenga ng'oliko ky'omanyi. Emimwa gya muka bandi, gyandikuwoomera ng'omubisi gw'enjuki, n'ebigambo by'ayogera ne bisinga omuzigo gw'emizayiti okuweweera, naye mu nkomerero, akuleka ng'okaayirirwa ng'oli ng'alidde omususa, era ng'obalagalwa obulumi. Akuserengesa mu kufa, n'ekkubo ly'akukwasa, likkirira magombe. Tali mu kkubo lya bulamu, alivuddemu nga ye takimanyi! Kale baana bange, mumpulirenga, era temuvanga ku bye ŋŋamba. Omukazi ng'oyo, omwewalanga, n'oluggi lw'ennyumba ye tolusembereranga. Bw'otomwewala, abalala balitwala ekitiibwa kyo, n'ottibwa abakambwe ng'okyali muvubuka. Abagwira balyefunira by'okoleredde, bye wateganira bifuuke bya balala! Olifa ng'onakuwadde, ng'owedde ku magumba, okenenye. Olyevuma ng'ogamba nti: “Lwaki nakyawa okubuulirirwa, ne nnyoomanga okunenyezebwa? Saawulirizanga bayigiriza bange, sassangayo mwoyo ku bye baŋŋamba. Mbuzeeko katono nneesange nga nswadde awali abakuŋŋaanye!” Mukazi wo ye ali ng'oluzzi olw'amazzi amayonjo. Nywanga amazzi ag'omu luzzi olulwo, amazzi agakulukuta, ag'omu luzzi olwo. Lwaki ensulo zo okusaasaanyizibwa eno n'eri, mukoka n'akulukutira mu nguudo? Amazzi ag'omu luzzi olwo gabe gago wekka sso si ga balala wamu naawe. Ensulo yo ebeerenga n'omukisa, era osanyukenga n'omukazi gwe wawasa mu buvubuka bwo, omulungi ng'ennangaazi, omubalagavu ng'empeewo. Akusanyusenga ennaku zonna, bulijjo osanyusibwenga okwagala kwe. Kale lwaki ggwe mwana wange, okusanyukiranga muk'omulala, n'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo? Mukama by'okola abiraba, era yeetegereza buli kkubo ly'okwata. Ebibi by'omuntu omubi miguwa, egimusiba nga ye ye agyerangidde. Obutayiga bulimutta, aliwaba agwe mu ntaana, olw'obusiru bwe obungi. Mwana wange, bwe weeyimirira munno, n'omuteerawo akabega, weesiba mu by'oyogera, ng'akamwa ko lye kkomera. Kale nno mwana wange, kola kino weewonye, kubanga oli mu buyinza bwa mulala: genda gy'ali weetoowaze, omwegayirire akuddiremu. Tomalanga kwebaka ku tulo, na kudda ku bbali owummuleko. Weewonye ng'empeewo edduka omuyizzi, era ng'ekinyonyi ekyetakkuluza mu mikono gy'omutezi. Kale ggwe omugayaavu, genda olabe enkuyege, weetegereze enkola yaazo, oziyigireko amagezi. Tezirina mukulembeze, newaakubadde omulabirizi, wadde omufuzi, naye zeeterekera akamere nga bakungula ebirimwa. Kale ggwe omugayaavu, olyebakanga kutuusa ddi? Olizuukuka ddi mu tulo two? Owoza: “Ka ngira neebakamu, nfunye ku mikono, ngalamiremu katono!” Naye ng'oli mu kubongoota, obwavu bulikwesibako, n'ebyetaago bikuzinde ggwe, ng'omutemu azze n'ebissi. Omuntu omubi entagasa, agenda abungeesa obulimba. Atemya ku maaso, aseesa ebigere, n'awenya n'emikono gye. Mu ndowooza ye enkyamu, ateesa kukola bya ffujjo! Asiga bya bukyayi mu balala. Kyaliva agwa ku kibabu ky'aliba talindiridde. Alimenyekawo mangu, nga tewali w'awonera. Waliwo ebintu mukaaga, oba nga musanvu Mukama by'akyawa, mazima bye yeenyinyala: entunula ey'amalala, olulimi olulimba, emikono egitta abatalina musango; omutima oguteesa eby'enkwe, ebigere ebiwenyuka okukola ebitajja nsa; omujulizi awa obujulizi obw'obulimba, n'omuntu asiga mu banne ebireeta okuyombagana. Mwana wange, kwatanga ebyo kitaawo by'akulagira, era okolenga ebyo nnyoko by'akuyigiriza. Bikuumenga bulijjo mu mutima gwo, era obyesibenga mu bulago. Binaakuluŋŋamyanga ng'otambula. Binaakukuumanga nga weebase, byogerenga naawe ng'ozuukuse, kubanga ekiragiro, ttaala, okuyigiriza, kitangaala, n'amateeka agakangavvula, lye kkubo erituusa mu bulamu. Obikuumanga, olyoke owonenga omukazi ow'empisa embi, n'akalimi ka muk'omusajja akasikiriza. Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo, n'ebisige by'amaaso ge biremenga kukusikiriza. Omukazi malaaya akunoonyaako nsimbi egula kaakulya; naye omukazi muk'omusajja, aleetera bulamu bwo bwennyini okuzikirira. Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, ebyambalo bye ne bitaggya? Oba omuntu ayinza okulinnya ku manda agookya, ebigere bye ne bitababuka? Bwe kityo bwe kiri ne ku muntu eyeebaka ne muka munne: mazima buli akikola, talirema kubonerezebwa. Abantu tebanyooma omubbi abbye emmere ng'alumwa enjala? Era bwe baba bamukutte, aliwa emirundi musanvu, awaayo buli ky'alina mu maka ge. Kyokka ayenda ku muka bandi, aba talina magezi. Oyo akikola, azikiriza bulamu bwe bwennyini. Alinyoomebwa n'akubibwa, n'okuswala kwe tekulikoma, kubanga obuggya butaamuusa omusajja nnyini mukazi, n'atabaako gw'addiramu mu kuwoolera eggwanga. Talibaako ky'akkiriza nti okiwaayo weenunule. N'ebirabo byo ebingi, tebirimunyiigulula. Mwana wange, kwatanga ebyo bye nkubuulirira; togezanga kwerabira bye nkulagira okukola. Ebyo bw'obituukiriza, oliwangaala. Bye nkuyigiriza bikuumenga, nga bw'okuuma emmunye y'eriiso lyo. Byesibenga ku mikono, obiwandiikenga mu mutima gwo munda. Gambanga amagezi nti: “Ggwe mwannyinaze,” oyitenga okutegeera omuntu w'ekika kyammwe. Birikukuuma bikuwonye omukazi muka bandi era na buli mukazi akusikiriza n'ebigambo ebiwoomerevu. Olumu nalingiza mu ddirisa, eddirisa ery'oku nnyumba yange. Ne ndaba ababuyabuya, omwali omuvubuka eyali talina magezi. Yali atambula mu luguudo ng'ayita mu kakoona, awali ennyumba y'omukazi. Bwali buzibye nga kiro, ekizikiza nga kikutte. Omukazi n'amusisinkana ng'ayambadde eby'obwamalaaya, era ng'akoze entegeka. Yayogeranga aleekaana, era nga muntu muzibu, bulijjo aba yeewuuba mu nguudo. Oluusi ng'ayimirira n'ateegera mu kasonda, oluusi mu bifo ebyalukale. Awo n'awambaatira omuvubuka, n'amunywegera, n'amusimba amaaso, n'amugamba nti: “Mpaddeyo olwaleero ebiweebwayo olw'okutabagana, ne ntuukiriza obweyamo bwange, era nninawo ennyama nnyingi; kyenvudde nzija nkusisinkane. Nfubye okukunoonya era nkulabye. Obuliri bwange mbwazeeko essuuka ennungi ez'ebikuubo, eza ppamba omulungi ava e Misiri. Mu buliri ntaddemu ebyakawoowo, eby'obubaane n'omugavu, n'ebyobuwoowo ebirala. Jjangu tusanyuke, ekiro kyonna tukimale mu kusinda mukwano, kubanga baze taliiyo eka, yagenda lugendo, ali wala. Yagenda n'ensimbi nnyingi nnyo. Kale ajja kumalayo wiiki bbiri, alyoke akomewo.” Omukazi n'akanya akalimi, n'akkirizisa evvubuka eryo, ne limugondera olw'ebigambo ebisikiriza. Ne limugoberera amangwago, ng'ente gye batwala okutta, oba ng'ensolo egwa mu mutego, mw'eneefumitirwa akasaale efe. Yali ng'ekinyonyi ekyanguwa okugwa mu kitimba. Yali tamanyi nti afa, nti obulamu bwe buggwaawo! Kale baana bange, muwulire bye ŋŋamba, mubisseeko omwoyo. Tokkirizanga mukazi ng'oyo kuwugula mutima gwo, n'ogoberera enkola ye, kubanga abasajja yazikiriza bangi. Abaafumitibwa ne bafa, abo tobabala n'omalayo. Okugenda ku nnyumba ye, kuba kusemberera magombe, kuba kusemberera kufa! Amagezi gakoowoolera, n'okutegeera kuleekaanira ku butunnumba okumpi n'ekkubo, mu masaŋŋanzira g'enguudo. Galeekaanira ku miryango awayingirirwa mu kibuga nti: “Mmwe abantu, mbakoowoola, buli ali ku nsi mmuyita. Mmwe ababuyabuya, muyige okwegendereza. Nammwe abasirusiru, mufube okuba abategeevu. Muwulire bye njogera ebirungi ebiyitirivu. Byonna bye mbabuulira nze, bituufu. Byenjogera bya mazima, era sikolagana na bulimba. Njogera bituufu byereere, temuli kikyamu wadde ekikyukakyuka. Byanguyira omutegeevu, era bitangaavu ku alina obumanyirivu. Mwagale bye njigiriza okusinga ffeeza, era mwagale okumanya okusinga zaabu omuyooyoote, kubanga amagezi gasinga nnyo amayinja ag'omuwendo. Tewali na kye weegomba ekyo, ky'oyinza kugeraageranya nago. “Ayogera ye nze Amagezi. Nsangibwa mu bwegendereza. Mu kusala obulungi ensonga, mwe njoleseza okutegeera. Okutya Mukama, kwe kukyawa ebibi. Nkyawa okwekuza n'okwepanka, n'empisa embi, n'eby'obulimba. Mbuulirira bulungi ne mpa amagezi amatuufu. Ntegeera, era nnina amaanyi. Nnyamba bakabaka okufuga, n'abafuzi okuteeka amateeka amalungi. Buli mufuzi ku nsi, nze mmuyamba okufuga, k'abe mukungu, k'abe mulamuzi. Abanjagala nange be njagala, era nzuulibwa abo, abanyiikira okunnoonya. Nnina obugagga n'ekitiibwa, obugagga obutuufu era obwenkalakkalira. Kye ngaba kisinga zaabu asingira ddala obulungi, kisinga ffeeza omuyooyoote. Amazima lye kkubo lyange, nkolera ku bwenkanya bwereere. Abanjagala mbawa obugagga, ne nzijuza amawanika gaabwe. “Mukama ng'atonda, yasookera ku nze. Ndi mulimu gwe ogw'edda, ogw'olubereberye. Nateekebwawo kuva dda. Naliwo okuva olubereberye, ng'ensi tennaba na kubaawo. Najja tewannabaawo nnyanja, wadde ensulo ezireeta amazzi; ensozi zaali tezinnassibwawo, n'obusozi nabusookawo. Katonda yali tannatonda nsi, na kuteekawo nnimiro, wadde enfuufu embereberye. Bwe yali abamba eggulu, naliwo, era ng'assaawo enkulungo ku nnyanja. Bwe yawanika ebire mu bbanga, n'aggulira ensulo eziri mu nnyanja, bwe yakugira ennyanja, amayengo galemenga okubuuka ensalo zaayo, n'assaawo emisingi gy'ensi, namuli ku lusegere ng'akaana ke akato, nga nze ndabirira omulimu. Era yansanyukiranga bulijjo, nga ndigitira w'ali, nga nsanyukira mu nsi ye n'ebigirimu, ng'essanyu lyange kwe kubeera wamu n'abantu. “Kale nno baana bange, muwulirize bye ŋŋamba, kubanga balina omukisa abakwata bye mbabuulirira. Muwulirizenga ebibayigirizibwa, mubenga n'amagezi; era amagezi, temugagayaaliriranga. Wa mukisa oyo awuliriza bye ŋŋamba, abeera ku luggi lwange bulijjo, ng'alindira ku mulyango gw'enju yange, kubanga buli anzuula aba azudde bulamu, era alyagalibwa Mukama. Naye oyo akola ekibi n'annyiiza, yeerumya yekka. Bonna abankyawa, baba booya kufa.” Amagezi gazimbye ennyumba yaago, ne gagikolera empagi musanvu. Gasse ensolo zaago, gayiisizza omwenge era gategese olujjuliro. Gasindise abawala baago abaweereza, bagende mu bifo by'ekibuga, ebisinga obugulumivu balangirire nti: “Buli mubuyabuya, ayingire muno!” N'atali mugezi gamugamba nti: “Jjangu olye ku mmere gye nfumbye, onywe ne ku mwenge gwe njiisizza. Vva mu batalina magezi, lw'oliwangaala. Tambuliranga wamu n'abategeevu.” Buli anenya omwepansi, yeereetera okuvumibwa; n'oyo abuulirira omubi, yeerumya yekka. Tobuuliriranga mwepansi, aleme okukukyawa. Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga. Bw'oyigiriza omugezi, yeeyongera kuba wa magezi. Bw'oyigiriza omuntu omulungi, yeeyongera okuyiga. Mu kutya Mukama, amagezi mwe gasookera, n'okugondera Oyo Omutuukirivu, kwe kuba omutegeevu. Okuba n'amagezi kyongera ku bungi bw'emyaka omuntu gy'awangaala, Kigasa ggwe okuba n'amagezi. Bw'oganyooma, weerumya wekka. Omukazi omusirusiru, aleekaana. Talina magezi, era taliiko ky'amanyi Atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, ku katebe mu bifo ebigulumivu eby'omu kibuga, n'akoowoola abayitawo, abali ku ŋŋendo zaabwe nti: “Buli omubuyabuya, ajje wano.” N'agamba n'oyo atali mutegeevu nti: “Amazzi amabbe ge gawooma okunywa, n'emmere eriirwa mu nkukutu, ye esanyusa.” Naye abo b'agamba tebamanyi ng'abayingira omumwe, bafiiramu; nga n'abagenyi be, bali magombe! Omwana ow'amagezi, asanyusa kitaawe; naye omwana omusiru, anakuwaza nnyina. Obugagga obufunibwa mu bukumpanya, tebuliiko kye bugasa; naye okuba omwesimbu, kutaasa obulamu bwo. Mukama taalekenga muntu mulungi kufa njala; naye ababi, abaziyiza okufuna bye beegomba. Emikono eminafu gissa nnyinigyo obwavu; naye emikono gy'omunyiikivu, gimuwa endulundu y'ebintu. Omuntu ow'amagezi akungula mu budde obw'ekyeya; naye eyeebaka mu bw'amakungula, akwasa abantu ensonyi. Omuntu omulungi, afuna emikisa; naye ababi, boogera bya bukambwe. Omuntu omulungi, anajjukirwanga nti wa mukisa; naye omubi, alyerabirwa. Omuntu omutegeevu, ayaniriza ebimulagirwa; naye omubuyabuya, alizikirira. Omuntu akolera ku mazima, aba bulungi, era aba mirembe; naye omukumpanya, alimanyibwa. Oyo abikkirira amazima ng'atemya ku liiso, aleeta okunakuwala; n'oyo ayogera eby'obusiru, alizikirira. Ebigambo by'omuntu omulungi, biba nsulo ya bulamu; naye eby'omubi, bikweka bukambwe. Obukyayi buleeta ennyombo; naye okwagala, kusonyiwa ebisobyo byonna. Mu bigambo by'omutegeevu, mubaamu amagezi; naye omugongo gw'omusiru, gusaanira kukubwa miggo. Abantu ab'amagezi, tebasamwassamwa na bigambo; naye omusiru by'ayogera, bimuleetera okuzikirira. Omugagga, by'alina bimukuuma; naye obwavu, buzikiriza oyo abulina. Omuntu ow'empisa ennungi, by'akola bimuleetera kuba mulamu; naye omwonoonyi, yeeyongera kukola bibi. Oyo akkiriza okubuulirirwa, akuuma obulamu bwe; naye oyo agaana okunenyezebwa, talema kuwaba. Omuntu akweka obukyayi, aba mulimba; n'oyo awaayiriza munne, aba musirusiru. Mu kwogera ebigambo ebingi, temubulamu bisoba; naye asirika, ye aba omwegendereza. Omuntu omulungi by'ayogera, biba nga ffeeza omuyooyoote; naye ebirowoozo by'ababi, tebiriiko kye bigasa. Ebigambo by'omuntu omulungi, bigasa bangi; naye abasiru bafa, olw'okubulwa okutegeera. Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, era tegujjirako buyinike. Okukola ebibi, gwe muzannyo gw'abasiru; naye okukola eby'amagezi, kye kisanyusa abategeevu. Omuntu omubi, alituukibwako ekyo ky'atya; naye abalungi, baliweebwa bye beegomba. Kibuyaga bw'akunta, ababi bamenyebwawo; naye abalungi, musingi mugumu ogw'olubeerera. Bw'otuma omugayaavu, akulumya ng'omwenge omukaatuufu bwe gunyenyeeza amannyo, era ng'omukka, bwe gubalagala mu maaso. Okutya Mukama kuwangaaza omuntu; naye emyaka gy'ababi, girisalibwako. Abalungi basuubira okusanyuka gye bujja; naye ababi, tebalina kalungi ke basuubirayo. Mukama akuuma abalungi; naye ababi, abazikiriza. Abantu abalungi, tebalisengulwa ennaku zonna; naye ababi, tebalikkalira mu nsi. Abantu abalungi, boogera eby'amagezi; naye abalimba, balisirisibwa. Abantu abalungi bamanya ebisaanye okwogerwa; naye ababi, boogera ebitabula abantu. Mukama akyawa abakozesa ebipimo ebikyamu; naye abakozesa ebipimo ebituufu, b'asiima. Kasita weepanka, tolema kuswala; naye omwetoowaze, ye w'amagezi. Okuba omwesimbu, kuluŋŋamya omuntu; naye obukumpanya, buzikiriza ab'enkwe. Mukama Katonda bw'asunguwala, obugagga tebukuyamba; naye okuba omwesimbu, kutaasa obulamu bwo. Obwesimbu bw'omuntu omulungi, buluŋŋamya obulamu bwe; naye omuntu omubi, yeezikiriza yekka. Abataliiko kamogo, obwesimbu bwabwe bulibawonya; naye ab'enkwe, balikwatirwa mu bye beegomba. Omuntu omubi bw'afa, bye yali asuubira bizikirira. Ateesiga Mukama, taliiko ky'aganyulwa. Omuntu omulungi, awonyezebwa ennaku ye, n'eddira omubi. Atatya Katonda ayogera ebizikiriza abalala; naye abantu abalungi, okumanya kubawonya. Abantu abeesigwa bwe bafuna ebirungi, ekibuga kisanyuka. Era omubi bw'afa, wabaawo okuleekaana olw'essanyu. Abantu abalungi, baleetera ekibuga omukisa; naye ebigambo by'ababi, bikireetera okuzikirira. Kya busiru okunyooma abalala; naye omuntu omugezi, asirika. Omubungeesa w'eŋŋambo, abotola ebyama; naye omwesigwa, asirikira ekigambo. Abantu bazikirira awatali wa magezi abaluŋŋamya; naye awali abawi b'amagezi abangi, we waba emirembe. Eyeeyimirira gw'atamanyi, talirema kwejjusa, akyawa okweyingiza mu by'abalala, ye aliba emirembe. Omukazi ow'ekisa, assibwamu ekitiibwa; n'abasajja abakakaalukanyi, bafuna obugagga. Mu kubeera n'ekisa, oganyulwa; naye omukambwe, yeerumya yekka. Akola ebibi yeerimba nti alibiggyamu omugaso. Akola ebirungi, ye aweebwa empeera yennyini emugasa. Anywerera mu mpisa ennungi, aliba mulamu; naye ow'empisa embi, yetta yekka. Mukama akyawa ab'emitima egitali mirongoofu; naye asanyukira abo, abakola ebituufu. Awatali kubuusabuusa, ababi balibonerezebwa; naye abantu abalungi, tebalituukibwako kabi. Obulungi bw'omukazi atalina mpisa, buli ng'empeta ya zaabu, eri mu nnyindo y'embizzi. Abantu abalungi beegomba birungi byereere; naye ababi kye basuubirayo, kusunguwalirwa Mukama. Waliwo abasaasaanya ensimbi, ne beeyongera kugaggawala; era waliwo abazikodowalira okusinga bwe kisaanidde, naye ne beeyongera kwavuwala. Omugabi aligaggawala; n'oyo awa abalala obuyambi, talibulako bamuyamba. Amma banne emmere ye akolimirwa abantu; naye oyo aguzaako abalala, bamusabira omukisa. Bw'oba nga ky'ogoba kirungi, olisiimibwa abalala; naye ky'ogoba bwe kiba nga kibi, era kibi ky'olifuna. Eyeesiga obugagga, alikunkumuka ng'amakoola g'omuti oguwaatula; naye omuntu omulungi, alinyirira ng'omuti ogutojjedde. Atawaanya ab'omu maka ge, alisikira bbanga; era omusiru, anaafugibwanga oyo ow'amagezi. Omuntu omulungi, aleetera banne obulamu; n'oyo alina amagezi, asika emitima gy'abantu. Oba nga abantu abalungi mu nsi baweebwa empeera ebasaanira, kale omubi n'omwonoonyi balirema batya okufuna ekibasaanira! Ayagala okubuulirirwa, ye mukwano gw'okumanya; naye akyawa okunenyezebwa, aba nsolo busolo. Mukama asiima abantu abalungi; naye ab'enkwe, abasingisa omusango. Okwonoona tekulamya muntu; omuntu omulungi ye anywera. Omukazi omwegendereza aba kitiibwa kya bba, naye omukazi aswaza, aba kookolo mu magumba ga bba. Ebirowoozo by'abantu abalungi biba bituufu; naye eby'ababi bya bulimba. Ebigambo by'ababi bya butemu; naye abenkanya, boogera bya kuwonya bantu. Ababi bazikirira, ne batalekaawo basika; naye ab'ennyumba z'abalungi abo balirama. Omuntu omwegendereza asiimibwa; naye ow'omutima omubi, oyo anyoomebwa. Omuntu omwetoowaze alina bye yeetaaga, akira eyeegulumiza, sso nga talina ky'alya. Omuntu omulungi, alabirira ensolo ze; naye omubi tazisaasira, aba mukambwe. Alima ettaka lye, aliba n'emmere nnyingi; agoberera ebitaliimu, oyo taba mutegeevu. Omunaala gw'ababi, gumenyeka ne gugwa; naye omusingi gw'abalungi, ogwo gunywera. Ebigambo by'omubi; gwe mutego ogumukwata naye omulungi awona emitawaana. Omuntu alifuna empeera, esaanira by'akola ne by'ayogera. Omusiru by'akola, alaba nga bituufu; naye ow'amagezi, awuliriza bye bamubuulirira. Omusiru olusunguwala, buli muntu n'akimanya; naye ow'amagezi, asirika ne bw'avumibwa. Ayogera amazima, ayolesa obwenkanya; naye obujulizi obw'obulimba, buleeta okusaliriza. Ayogera nga talowoozezza, ebigambo bye biba kitala ekifumita abalala; naye ebigambo by'ab'amagezi, biwonya. Ebigambo eby'obulimba, biba bya kaseera buseera; naye eby'amazima, bibeerera ennaku zonna. Abateesa okukola ebibi, abo beerimba; naye essanyu liba ly'abo, abateesa eby'emirembe. Omuntu omulungi, talituukibwako kabi; naye ababi, tebaabulwengako mitawaana. Mukama akyayira ddala aboogera eby'obulimba; kyokka asanyukira abakolera ku mazima. Omuntu omutegeevu, talaalaasa buli ky'amanyi; naye omusiru, alangirira obutamanya bwe. Okunyiikirira okukola, kukufuula wa buyinza; naye obugayaavu, bukufuula muddu. Ennaku y'oku mutima, ereeta okwennyamira; naye ekigambo ekirungi, kisanyusa omuntu. Omuntu omulungi aluŋŋamya banne, naye omubi, abawabya. Omugayaavu alemwa okufumba ky'ayizze; naye omunyiikivu, afuna ebyobugagga bingi. Okugoberera empisa ennungi, mwe muli obulamu; era azigoberera tazikirira. Omwana ow'amagezi assaayo omwoyo ku ebyo, kitaawe by'amubuulirira; naye omunyoomi, tawuliriza kunenyezebwa. Omuntu omulungi afuna ebirungi olw'ebigambo by'ayogera; naye ab'enkwe beegomba kukola bya bukambwe. Eyeegendereza by'ayogera, akuuma obulamu bwe; naye enjogeziyogezi, yeereetera okuzikirira. Omuntu omugayaavu, tafuna bye yeegomba; naye omunyiikivu, agaggawala. Omuntu omulungi, akyawa obulimba; naye omubi mugwagwa, era akola ebiswaza. Obwegendereza, bukuuma omulongoofu; naye obubambaavu, busuula omwonoonyi. Waliwo abeeyisa ekigagga, naye nga tebalina kantu. Waliwo abeeyisa ng'abaavu, naye nga bagagga babifeekeera. Omugagga by'alina bye bimununula; naye omwavu, tawuliriza kunenyezebwa. Abantu abalungi, bali ng'ettaala ekoleezeddwa n'eyaka; naye bo ababi, bali ng'ettaala ezikidde. Okwekuza kuleeta kuwakana, naye eky'amagezi, kwe kukkiriza okubuulirirwa Obugagga obujja amangu, era buggwaawo mangu; naye obwo bw'okuŋŋaanya empolampola ng'okola emirimu, bulyeyongera okwala. Okulwawo okufuna ky'osuubira, kirwaza ebirowoozo; naye afuna kye yeegomba, oyo addamu obulamu. Anyooma okubuulirirwa, yeereetera okuzikirira; naye agondera ekiragiro, aliweebwa empeera. Enjigiriza y'ab'amagezi, eba nsulo ya bulamu, eggya abantu mu kufa. Okutetenkanya okulungi, kwagazisa omuntu; naye okuba ow'enkwe, kibi. Abantu abategeevu, bamala kulowooza ne balyoka bakola; naye omusiru, ayolesa obutamanya bwe. Omubaka ateesigwa, aleeta emitawaana; naye omutume omwesigwa, aleetawo emirembe. Atayagala kubuulirirwa, ayavuwala era aswala; naye akkiriza okunenyezebwa, assibwamu ekitiibwa. Omuntu asanyuka okufuna kye yeegomba; naye ababi tebaagalira ddala kulekayo kwonoona. Otambulanga n'ab'amagezi, naawe obe wa magezi; naye bw'olikwana abasiru, oli wa kulaba nnaku. Emitawaana gyesiba ku boonoonyi; naye abantu abalongoofu, baliweerwa ebirungi. Omuntu omulungi afuna obugagga bw'alirekera n'abazzukulu; naye obugagga bw'aboonoonyi, bulitwalibwa abo abalungi. Ennimiro z'abaavu, zibala emmere nnyingi; naye abatali benkanya tebabaganya kugirya. Atabonereza mwana we, aba amukyaye; naye amwagala, assaayo omwoyo okumukangavvula. Omuntu omulungi, afuna by'alya n'akkuta; naye omuntu omubi alumwa enjala bulijjo. Amaka gatereezebwa magezi ga bakazi, naye obusiru bugazikiriza. Omwesimbu mu mpisa ze, ye alaga bw'atya Mukama; naye atali mwesimbu, alaga bw'atassaamu Mukama kitiibwa. Omusiru by'ayogera, bye biba omuggo ogukuba okwekuza kwe; naye ebigambo by'ow'amagezi, bimukuuma. Awatali nte zirima amaterekero g'emmere gaba makalu; naye alina ente ezirima ez'amaanyi, amawanika ge gajjula eŋŋaano. Omujulizi omwesigwa, talimba; naye omujulizi ow'obulimba, ayogera byabulimba byereere Omuntu omunyoomi, anoonya amagezi, kyokka tagafuna naye omutegeevu, ayiga mangu. Vva awali omusiru, talina kirungi ky'akuyigiriza. Amagezi g'omutegeevu, gamumanyisa eky'okukola; naye obubuyabuya bw'abasiru, bubalimbalimba. Abasiru tebafaayo bwe bazza omusango; naye abantu abalungi, basaba okusonyiyibwa. Ennaku gw'eruma, ye agimanya; era n'essanyu ly'omu, teritegeerebwa mulala. Ennyumba y'omubi ng'egudde, ey'omulungi erisigala eyimiridde. Oluusi ekkubo omuntu ly'ayita ettuufu lye limutwala mu kufa. Enseko zandikweka obuyinike, n'essanyu ne livaamu okunakuwala. Omuntu omubi alifuna ekimugwanira; n'omuntu omulungi, aliweebwa empeera egwanira ebikolwa bye. Omuntu omusiru amala gakkiriza buli kintu; naye omutegeevu, amala kwetegereza. Ab'amagezi beegendereza ne beewala okukola ebitasaana; naye abasiru tebassaayo mwoyo, era bafubutukira bye bakola. Oyo ayanguwa okusunguwala, akola ebitajja nsa; n'omuntu asalira banne enkwe, akyayibwa. Abasiru baba babuyabuya; naye ab'amagezi bamanya bingi. Ababi balifukaamirira abalungi; n'aboonoonyi balyeguya abo abatya Mukama. Omuntu omwavu, ne mikwano gye gimukyawa; naye omugagga, aba n'emikwano mingi. Kiba kibi omuntu okunyooma munne; naye asaasira abaavu, aba n'omukisa. Abateesa okukola ebibi bawaba; naye abateesa okukola ebirungi, balyesigibwa ne baagalibwa bannaabwe. Okubaako omulimu gw'okola, kigasa; naye okwogera obwogezi, kwavuwaza. Ab'amagezi bagaggawala; naye ababuyabuya, basiruwala. Omujulizi ayogera amazima, awonya obulamu bw'omuntu; naye aleeta eby'obulimba, abulyamu olukwe. Okutya Mukama, kugumya nnyo omuntu; era kumukuuma n'ab'omu maka ge. Okutya Mukama, nsulo ya bulamu era kuwonya omuntu okufa. Abantu abafugibwa gye bakoma okuba abangi, n'ekitiibwa kya kabaka waabwe gye kikoma okuba ekinene. Eky'atalina b'afuga, tekibaawo. Atasunguwala mangu, yeetegereza bulungi ebintu; naye alina akasunguyira, akola n'ebitajja nsa. Alina emirembe mu mutima, n'omubiri gwe guba mulamu; naye obuggya, bugulya nga kookolo. Omuntu ajooga abaavu, aba anyooma Oyo eyabatonda; naye omuntu amussaamu ekitiibwa, asaasira abali mu bwetaavu. Abakola ebibi bibazikiriza; naye omuntu omulungi, afa alina essuubi. Abategeevu baba n'amagezi; naye ekiri mu mitima gy'abasiru, kimanyiddwa. Empisa ennungi ziweesa eggwanga ekitiibwa; naye okwonoona, kulivumaganya. Bakabaka basanyukira abaweereza abalungi; naye basunguwalira ababaswaza. Okuddamu n'eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi; naye ebigambo eby'ekkabyo, bisaanuula obusungu. Ab'amagezi boogera ebisaanidde; naye abasiru bamokkola buli kye basanga. Mukama alaba buli wantu, ng'alabirira abalungi n'ababi. Okwogera eby'ekisa, kiwa obulamu; naye ebigambo eby'obukambwe, bikosa omutima. Omusiru anyooma ebyo kitaawe by'amubuulirira; naye omutegeevu, akkiriza okunenyezebwa. Amaka g'abantu abalungi, gabaamu ebyobugagga bingi; naye amagoba g'omubi, tagafunamu mirembe. Ab'amagezi bye boogera, bibunyisa okumanya; naye ebirowoozo by'abasiru, si bwe bikola. Mukama yeenyinyala ebitambiro by'aboonoonyi; wabula asanyukira okwegayirira kw'abantu abalungi. Mukama akyawa enneeyisa y'abantu ababi; naye ayagala abafuba okukola ebituufu. Ava mu kkubo ettuufu, wa kukangavvulwa nnyo. Akyawa okunenyezebwa, afa. Oba ng'ebiri emagombe awali okuzikirira, Mukama nabyo abimanya, kale kiki ekimwekweka mu mitima gy'abantu? Omunyoomi tayagala kunenyezebwa, era tayagala kwebuuza ku bamusingako okuba abagezi. Asanyuka mu mutima, ne ku maaso amwenya; naye ali mu buyinike, atunuza bwennyamivu. Ab'amagezi baagala okuyiga; naye abo abasiru, basanyukira mu butamanya. Ennaku zonna ez'ababonyaabonyezebwa, ziba mbi; naye omusanyufu, aba ng'ali ku mbaga ey'olubeerera. Okuba omwavu naye ng'otya Mukama, kisinga okuba omugagga naye nga tolina mirembe. Waakiri okulya amaluma, ne mulya nga mwagalana; okusinga okulya ebisava, awali okukyawagana. Omuntu w'akasunguyira, asaanuula ennyombo; naye omukwatampola, akkakkanya empaka. Ekkubo ly'omugayaavu, lukomera lwa maggwa; naye oluwenda lw'abagolokofu, lwe luguudo oluyooyoote. Omwana omugezi, ssanyu lya kitaawe; naye omuntu omusiru, ye anyooma nnyina. Atalina magezi, asanyukira obubuyabuya; naye omuntu omutegeevu, ayagala okukola ekituufu. Awatali muwi wa magezi, bye muteesa tebirama; naye bitereera, awali abawabuzi abangi. Okuddamu ekituufu mu kaseera akatuufu, kisanyusa omuntu. Abantu ab'amagezi bakwata ekkubo eryambuka awali obulamu, ne beewala eriserengeta mu kufa. Mukama azikiriza amaka g'abeekulumbaza; naye akuuma n'anyweza ebintu bya bannamwandu. Mukama yeenyinyala buli kirowoozo ekibi; naye ebigambo ebirungi, ebyo abisanyukira. Alulunkanira amagoba g'afuna mu bukumpanya, amaka ge agaleetera mitawaana; naye atalya nguzi, ye aliba omuwangaazi. Abantu abalungi bamala kulowooza nga tebannaba kwanukula; naye abo ababi boogera ebitasaana. Abantu abalungi bwe basaba, Mukama abawuliriza; naye ababi, abeesamba. Atunuza essanyu, asanyusa; n'amawulire amalungi, tegalema kweyagaza. Omuntu akkiriza okubuulirirwa ebimuzimba, abalirwa mu b'amagezi. Agaana okubuulirirwa, yeefiiriza yekka. Akkiriza okunenyezebwa, yeeyongera okugeziwala. Okutya Mukama, kwe kuyigiriza omuntu amagezi; n'okwetoowaza, kwe kukulembera okukuzibwa. Omuntu ateekateeka by'anaakola; naye Mukama ye asalawo eky'enkomerero. Wandirowooza nti buli ky'okola kituufu; naye Mukama ye alamula ekikuli mu mmeeme. Buli ky'okola kikwase Mukama, ebyo by'oba otegese lwe binaatuukiriranga. Buli kintu Mukama yakikola, ng'alina ekigendererwa; era wamma n'ababi, ye abateerawo olunaku kwe balifunira ebizibu. Abeekuza bonna we bafa benkana, Mukama abakyawa. Teri na gye baliddukira kibonerezo ky'alibawa. Okuba n'ekisa n'amazima, bye bitukuza omwonoonyi; era n'okutya Mukama, kwe kuggya omuntu mu bibi. Bw'okola ebisanyusa Mukama, n'abalabe b'oba nabo, abafuula mikwano gyo. Akatono ak'obwenkanya, kakira by'ofuna ebingi nga tokozesa mazima. Weewaawo omuntu ye ateesa by'anaakola, naye Mukama ye abiruŋŋamya okulama. Katonda ye aluŋŋamya Kabaka mu by'ayogera; ye amuyamba mu by'asalawo, n'atawubwa mu nnamula. Mukama ayagala minzaani n'ebipimo ebirala byonna bibe bituufu; era buli buguzi bwonna ayagala bube bwa bwenkanya. Kabaka okukola ebintu ebibi kyennyamiza, kubanga obuyinza bwe obw'okufuga, bumuweebwa kukola birungi. Bakabaka basanyukira abo, abababuulira amazima; era baagala abantu aboogera ebituufu. Kabaka bw'asunguwala, yandituuka n'okutta; naye omugezi ky'ayiiya, kumuwooyawooya mangu. Kabaka bw'asanyuka, olwo n'ababe balama. Oyo leero gw'aganza, atonnyerwa nkuba egimusa. Alina amagezi n'okutegeera, akira wala eyafuna ffeeza wamu ne zaabu. Abantu abalongoofu, beewala okukola ebibi; era oyo anaawonya obulamu bwe yeegendereza empisa ze. Okwekuza kuleeta okuzikirira; n'okwegulumiza kuvaamu okugwa. Okwetoowaza n'oba wamu n'abaavu, okira agabana omunyago awamu n'abeekulumbaza. Omwegendereza mu buli kimu, anaabeeranga bulungi; era eyeesiga Mukama, aba wa mukisa. Omuntu ow'amagezi, gwe bayita omutegeevu; ow'ebigambo ebiseeneekerevu, mwangu okumatiza abantu. Amagezi g'omutegeevu, gamuviiramu obulamu; naye okusomesa omusiru, oteganira bwereere. Ow'amagezi ayogera bya makulu, ne by'ayogera, ne bimatiza abantu. Ebigambo eby'ekisa, nga biba biwoomerevu! Bizzaamu amaanyi, ne bireeta n'obulamu. Oluusi ekkubo omuntu ly'ayita ettuufu, lye limutwala mu kufa. Obwetaavu buleetera omuntu okukola, afune k'alya. Omuntu omubi entagasa, aba n'ettima, ne by'ayogera lubabu kattira. Abantu ababi bagenda bakoleeza ennyombo; n'abageyi baawukanya ab'omukwano ogutinta ennyo. Omukozi w'eby'obukambwe asendasenda munne, n'amukozesa ebya mbyone. Weerinde oyo atta ku liiso, by'ateesa biba bya kyejo; era bw'aluma emimwa omwekeka, abaako akabi k'ategeka. Envi ez'obukadde, ngule ya kitiibwa; era efunibwa oyo, akola Katonda by'ayagala. Omugumiikiriza aba muzira okusinga omulwanyi nnamige; era eyeefuga mu mutima, asinga awangula ekibuga. Abantu bakuba akalulu, balabe ekinaavaamu; naye Mukama ye asalawo gwe kaba kalonzeewo. Akatono k'olya ng'olina emirembe, ne bwe kaba ka maluma, kakira embaga gy'oliira mu maka omuli okuyomba. Omuweereza atuukiriza obulungi emirimu, alifuga omwana ow'omu nju ow'eddalu, era alifuna omugabo gw'obusika ng'omu ku booluganda. Zaabu wamu ne ffeeza, bamugereza mu kabiga; naye omutima gw'omuntu, Mukama ye agugeza. Abakola ebibi, be bawuliriza emboozi embi; n'omulimba, ye anyumirwa okuwuliriza eby'ettima. Aduulira abaavu, avvoola Omutonzi waabwe; n'oyo asanyukira ennaku ya banne, talirema kubonerezebwa. Abakadde beeyagalira mu bazzukulu baabwe, n'abaana beenyumiririza mu bakitaabwe. Okwogera eby'amakulu, tekikolebwa musiru; n'omuntu oweekitiibwa, tagwanira kuba mulimba. Eriyo abalowooza nti okuwanga enguzi kubasobozesa byonna, era ne beesigula nti enguzi terina ky'eremererwa. Anoonya okwagalibwa, asonyiwa abasobya; naye ajjukiza ebisobyo, ayawukanya ab'omukwano. Omuntu ow'amagezi anenyezebwa lumu n'ayiga, okusinga omusiru, akubwa emiggo ekikumi. Omuntu omubi, buli kiseera ajeema. Kyebaliva bamutumira omubaka omukambwe, amukwate. Waakiri osisinkana eddubu eggyiddwako abaana baayo, n'otosisinkana musiru ng'akola eby'obusiru bwe. Bw'okolera ekibi omuntu akukoledde ekirungi, akabi tekaliva mu nnyumba yo. Okutandikawo empaka, kuli nga kuggulira mazzi. Kale towakananga, waleme kubaawo kuyomba. Eyejjeereza omuntu eyazza omusango, n'oyo agusala ne gusinga ataguzzanga, Mukama bombi abeenyinyala. Ensimbi omusiru z'awaayo asasulire eby'okuyiga, zimufa bwereere: kuba tayinza kubitegeera. Ab'omukwano baagalana ennaku zonna, n'abooluganda babaawo kuyambagana mu bizibu. Buba busiru okwewaayo okweyimirira omulala, ng'omuteerawo akabega. Ayagala ennyombo, ayoya mitawaana; n'oyo eyeekulumbaza, anoonya kuzikirira. Alina endowooza embi, talifuna birungi; n'ow'enjogerambi, yeesombera akabi. Azaala omusiru, yeereetera ennaku; era kitaawe w'omusiru, tabeera na ssanyu. Okuba omusanyufu, nakwo ddagala eriwonya; naye okuba omunakuwavu, kukozza omubiri. Omulamuzi omubi, akkiriza enguzi mu nkukutu, n'atasala musango mu mazima. Omuntu omutegeevu, ategeka n'akola eby'amagezi; naye omusiru, amala gatandika kino na kiri. Omwana omusiru, anakuwaza kitaawe, era aleetera nnyina obulumi. Si kituufu okutanza atazzizza musango, era kibi okubonereza akoze ekirungi. Ow'amagezi yeefuga mu by'ayogera; era omukkakkamu, mutegeevu. Omusirusiru asirise, bandimuyita omugezi; bw'abunira n'atavaamu kigambo, yandibalwa okuba omutegeevu. Eyeeyawula ku balala, aba yeenoonyeza bibye yekka, era aba awakanya ebyo abalala bye bayita ebituufu. Omusiru tafaayo kutegeera; ky'alumirwa, kwe kwogera ekiri mu mutima gwe. Okukola ekibi, kuleeta okunyoomebwa; era awaba okuswazibwa, tewabulawo kuvumibwa. Omuntu ebigambo by'ayogera, biyinza okubaamu amagezi agakka ng'ennyanja ey'eddubi, amalungi ng'amazzi agakulukuta. Si kirungi okuginya omubi, n'okusaliriza ataliiko musango. Omusiru bw'atandika oluyombo, aba yeesabira kukubibwa miggo. Omusiru by'ayogera, bye bimuzikiriza; ebigambo bye, ye nvuba emusiba. Ow'olugambo by'ayogera, biwoomera nnyo awulira, nga bw'olya emmere ewooma, n'ekukkalira mu lubuto. Akola emirimu n'obugayaavu talina njawulo n'oyo agyonoona. Mukama, kigo ekigumu abantu abalungi mwe baddukira, ne bakuumibwa mirembe. Abagagga, balowooza nti ebyobugagga bye balina, kye kibuga kyabwe ekigumu, era nti kye kisenge ekigulumivu ekibataasa. Okwekulumbaza, kwe kukulembera okuzikirira; n'okwetoowaza, kwe kukulembera okukuzibwa. Addamu nga tannawulira, aba musiru, era aswala. Obumalirivu bw'omulwadde, buwanirira obulamu bwe; naye bw'aterebuka, nga n'endasi zimuggwaamu. Abantu abategeevu, bayigga bya kuyiga; abantu ab'amagezi, banoonya bya kumanya. Aleeta ekirabo, bamuleka n'ayitawo, n'atuuka mu maaso g'abakulu. Asooka okuwoza, yeetukuza, okutuusa addako lw'ajja, n'amulumiriza. Akalulu kakomya empaka, era kalamula ab'amaanyi. Okuddamu okutabagana n'owooluganda anyiize, kizibu okusinga okuwaguza mu kisenge ekigumu ekyetoolodde ekibuga; era ennyombo z'abooluganda, ziba nzibu okutawulula, nga bw'olaba okukutula oba okumenya bye basibisa ekigo ekigumu. Omuntu asaanidde okugumira byonna ebiva mu by'ayogera. Olulimi lwa buyinza okuleeta okufa oba obulamu. Kale omuntu abenga n'obuvunaanyizibwa, ku bintu byonna by'ayogera. Azuula omukazi ow'okuwasa aba azudde ekirungi, era Mukama aba amuwadde omukisa. Omuntu omwavu, akozesa ggonjebwa ng'ayogera; naye omugagga, addamu na bboggo. Ab'omukwano abamu, baba ba kiseera buseera; sso eriyo akunywererako n'okusinga owooluganda. Omwavu akolera ku mazima, akira omulimba omusiru. Si kirungi okukola nga tomaze kulowooza; n'okubuguutanira ebintu, kukuleetera okuwubwa. Abamu bakola eby'obusiru, ne beereetera emitawaana, ate ne banenya Mukama. Omuntu omugagga, yeeyongera kufuna mikwano; kyokka oyo omwavu, ne gy'alina gimwabulira. Awa obujulizi obw'obulimba, talirema kubonerezebwa. Omulimba talibaako w'awonera. Bangi abaagala okuganza omugabi, era buli muntu yeegomba okukwana agaba ebirabo. Omwavu akyayibwa baganda be bonna; leero alabisa mikwano gye! Abo bamwewala. Akanda kubakoowoola, olugenda tebadda! Afuna amagezi, yeegasa; anyweza by'ayize, afuna ebirungi. Awa obujulizi obw'obulimba, talirema kubonerezebwa. Omulimba ddala alizikirira. Omusiru tasaanira kuba mu byakwejalabya, era n'omuddu tasaanidde kufuga bakungu. Omalanga kwekkaanya, n'otomala gasunguwala; era kiba kya kitiibwa, okusonyiwa abasobya. Obusungu bwa kabaka butiisa, ng'okuwuluguma kw'empologoma; naye okusaasira kwe kuweweeza ng'omusulo ogunnyikiza omuddo. Omwana omusiru, nnaku ya kitaawe; n'okuyomba kw'omukazi, ye nkuba etekya. Ennyumba n'obugagga, obisikira ku kitaawo; naye okufuna omukazi omutegeevu, kiba kirabo kya Mukama. Omuntu omugayaavu, yeebaka otulo tungi; kyokka atakola, alirumwa enjala. Akuuma ebiragiro, aba mirembe; atabissaako mwoyo, afa. Agabira abaavu, awola Mukama: era Mukama alimusasula ebirungi by'abakoledde. Bonereza omwana wo, nga wakyaliwo essuubi ery'okumugolola, oleme kumuleka kuzikirira. Omuntu ow'obusungu aliriwa: kubanga ne bw'omuwonya omulundi ogusooka, kirikwetaagisa okuddamu okumuwonya. Wulirizanga ebikubuulirirwa, okkirizenga okuwabulwa, lw'olibeera omugezi gye bujja. Abantu bategeka bingi eby'okukola, naye Mukama by'ayagala, bye bituukirira. Ekireetera omuntu okwagalibwa, kiba kisa kye; n'omwavu, akira omulimba. Okussaamu Mukama ekitiibwa, kuleeta okuwangaala; ali nakwo aba mumativu, era aba mirembe. Omugayaavu akoza emmere mu nva, n'alemwa okugyeteeka mu kamwa! Bonereza omunyoomi, abatalina magezi bayige. Bw'obuulirira omutegeevu, yeeyongera okutegeera. Atulugunya kitaawe, oba agoba nnyina mu maka ge; aba mwana kaggwensonyi, era asaanye okuvumirirwa. Mwana wange, bw'okomya okuyiga, olyerabira ne bye wali omanyi. Omuntu awa obujulizi obw'obulimba, anyooma obwenkanya, n'abantu ababi, bawoomerwa okukola ekibi. Abanyoomi tebalirema kusingibwa musango, n'abasiru tebalirema kubonerezebwa. Omwenge gukudaalira abagunywa, n'ebitamiiza bibaleekaanya; n'ababyettanira, si ba magezi. Kabaka bw'asunguwala, atiisa ng'empologoma ewuluguma; kale okumusunguwaza, kuba kwetta wekka. Kya kitiibwa okwewala ennyombo, era abasiru be baagala okuyombanga. Omugayaavu atalima ng'enkuba etonnye alinoonya ky'akungula, nga takiraba. Omuntu by'alowooza, biri ng'amazzi agali mu luzzi oluwanvu; omutetenkanya, ye agasenayo. Abantu bangi abeeyita ab'ekisa; naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumuzuula? Abaana ba mukisa abalisikira kitaabwe omulungi era omwesigwa. Kabaka bw'atuula okusala emisango, apima n'azuula ekirungi n'ekibi. Ani ayinza okugamba nti: “Ntukuzizza omutima gwange, kati ndi mulongoofu, sirina kibi na kimu?” Mukama akyayira ddala abakozesa minzaani n'ebipimo ebirala ebikyamu. N'omwana omuto by'akola, biraga bw'ali: oba nga mulongoofu, era nga mwesimbu. Amatu ge tuwuliza, n'amaaso ge tulabisa, byonna Mukama ye yabitonda. Tomalanga biseera byo mu tulo, sikulwa ng'ojjirwa obwavu. Beeranga mulabufu, ofunenga emmere gy'olya. Omuguzi, ajerega ky'alamuza, naye bw'amala okugula, agenda yewaana bw'akisuuzizza obusuuza. Eriyo zaabu, era eriyo amayinja ag'omuwendo mangi, naye eky'omuwendo ekitasangikasangika, ye muntu ayogera eby'amagezi. Omuntu eyeeyimirira gw'atamanyi, asaana aggyibweko ky'asinzeewo. Oyo awoomerwa by'afunye mu butali bwenkanya, oluvannyuma bimufuukira ng'alya omusenyu. Kyagala okubuulirirwa mu by'oteekateeka okukola; n'okulwana olutalo, kyetaaga abawi b'amagezi. Abunza eŋŋambo, takuuma byama; n'oyo enjogeziyogezi, tomwesemberezanga. Akolimira kitaawe oba nnyina, obulamu bwe buliba ng'ettaala, ezikizibwa mu kizikiza ekikutte ennyo. Bw'ofuna by'otosoose kuteganira, mu nkomerero, tebiba bya mukisa. Teweewereranga kuwoolera ggwanga; olekeranga Mukama, n'akulwanirira. Mukama akyawa abakozesa ebipimo ebitali bituufu. Minzaani epima ebikyamu, mbi. Mukama ye afuga entambula yaffe. Kale omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo mu bulamu bwe ly'akwata? Kuba kwesuula mu mutego, okwanguwa okusuubiza Mukama ekintu, n'olyoka weerowooza ng'omaze okweyama. Kabaka ow'amagezi azuula abasobya, n'ababonereza n'obukambwe. Omwoyo gw'omuntu, ye ttaala Mukama gye yamussaamu, emulisa ne munda. Ekisa n'obwesigwa, bye biwanirira kabaka; era obusaasizi, bwe bunyweza entebe ye. Ekyenyumirizisa abavubuka, maanyi gaabwe; n'omutwe ogw'envi, gwe gulungiya abakadde. Emiggo egibalagala, gigolola empisa embi; n'okuswanyuulwa, kuggyamu emize. Omutima gwa kabaka, guba mu buyinza bwa Mukama: agukyusa n'aguzza buli gy'ayagala, nga bwe bakyusa amazzi agafukirira ennimiro. Omuntu ayinza okulowooza nti buli ky'akola kituufu; naye Mukama ye apima ekigendererwa ky'omutima. Okukola ekituufu era eky'obwenkanya, kusiimibwa Mukama, okusinga okumuwa ebitambiro. Ababi bafugibwa kwekulumbaza, na kwegomba okubi; era ebyo byonna, bibi. Entegeka z'omunyiikivu, zimuviiramu amagoba; naye oyo abuguutanira ebintu, yeereetako obwavu. Obugagga obufunibwa mu bulimba, buyita nga mpewo, tebusimba; abwagala, anoonya kufa. Ababi bamalibwawo obukambwe bwabwe, kubanga bagaana okukola eby'obwenkanya. Obulamu bw'ababi, tebubaamu bwesimbu; naye omulongoofu, akola ebituufu. Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, n'otaba na mukazi muyombi, mu nnyumba awagazi. Omubi, yeegomba okukola ebibi; tabaako n'omu gw'alumirwa. Omunyoomi bw'abonerezebwa, n'atabadde mulabufu ayiga; era ow'amagezi bw'ayigirizibwa, yeeyongera okumanya. Katonda Omutuukirivu, amanyi ebiri mu maka g'ababi; era alibamegga ne bazikirira. Agaana okuwuliriza omwavu ng'akaaba, naye yennyini alikaaba n'atawulirwa. Ekirabo ekiweere mu kyama, kikkakkanya obusungu; n'okuwa omuntu ekiyiiyize, kimumalako ekiruyi. Abantu abalungi, basanyukira obwenkanya; naye abo ababi, bubazikiriza. Omuntu awaba, n'aggwaamu okutegeera, alyesanga ali mu bafu. Ayagala eby'amasanyu, wa kwavuwala; awoomerwa omwenge n'ebyokulya ebisava, si wa kugaggawala. Abantu ababi, batuukibwako emitawaana gye baba baagadde okutuusa ku balungi. Waakiri okubeera mu nsi ey'eddungu, n'otobeera na mukazi muyombi, era anyiiganyiiga. Omuzigo n'ebyobugagga ebirala, bibeera mu maka g'ow'amagezi; naye omusiru, abimalawo byonna. Afuba okukola ebirungi, n'okuba ow'ekisa, awangaala; assibwamu ekitiibwa, era ayisibwa bulungi. Omutabaazi ow'amagezi, awangula ekibuga ky'ab'amaanyi, n'amenya ebisenge byakyo bye beesiga. Buli eyeegendereza mu by'ayogera, yeewonya emitawaana. Eyeekuza ne yeegulumiza, ayitibwa munyoomi; aba yeepanka, era talina gw'alumirwa. Omuntu omugayaavu, attibwa okwegomba kwe, kubanga tayagala kukola. Olunaku lwonna, omubi yeegomba kubaako by'afuna; naye omulungi agaba, era takodowala. Mukama yeenyinyala ekitambiro ky'ababi, naddala bwe bakireeta n'ekigendererwa ekitali kirungi. Omuntu awa obujulizi obw'obulimba, alibonerezebwa; naye oyo awuliriza ensonga, by'ayogera bikkirizibwa. Omuntu omubi, yeekazaakaza ku maaso; naye omulungi, teyeetya. Tewali magezi na kutegeera, wadde okuteesa kw'omuntu, ebiyinza okuwakanya ne biwangula Mukama. Oyinza okutegeka embalaasi olw'okulwana olutalo, naye Mukama ye agaba obuwanguzi. Bw'oba wa kulondawo, londawo erinnya eddungi, okusinga okulondawo obugagga. Era okuganja n'okwagalibwa, kusinga okuba ne zaabu ne ffeeza. Omugagga n'omwavu, balina ekibagatta: Ye Mukama, bonna eyabatonda. Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja, n'akeewala; naye abatalina magezi, bagenda bugenzi ne bakagwamu. Abantu abeetoowaza n'abassaamu Mukama ekitiibwa, bafuna obugagga n'ekitiibwa, era n'obuwangaazi. Amaggwa n'emitego, biri mu kkubo ly'ababi. Ayagala okukuuma obulamu bwe, abyewala. Yigiriza omwana wo, nga bw'asaanye okweyisa mu bulamu bwe; ekyo talikivaako ne mu bukadde bwe. Omuntu omugagga, ye afuga omwavu; n'oyo eyeewola, aba muddu w'oyo amuwola. Asiga obutali bwenkanya, alikungula mitawaana, n'okukambuwalira banne, kuliggwaawo. Wa mukisa oyo ow'ekisa, kubanga abaavu abagabira ku mmere ye. Bw'ogobawo omunyoomi, n'entalo ziggwaawo; era empaka n'okuswala bikoma. Ayagala omutima omulongoofu n'okwogera ebigambo eby'ekisa, afuuka mukwano gwa kabaka. Mukama yeekaliriza okulaba ng'amazima gakuumibwa; era azikiriza enkwe z'abalimba. Omugayaavu agamba nti: “Ebweru eriyo empologoma, ejja kunzitira mu nguudo.” Akalimi k'omukazi atali wuwo, bunnya buwanvu: abo Mukama b'asunguwalidde, babugwamu. Kya butonde omwana omuto okukola ebitali bya magezi; naye okubonerezebwa, kubimuggyamu. Anyigiriza omwavu, ye yeegaggawaze, n'oyo agabira abagagga ebirabo, tebalirema kwavuwala. Wuliriza ebigambo, ab'amagezi bye baayogera; ssaayo omwoyo, oyige bye nkuyigiriza. Kiba kirungi, singa osobola okubijjukira, nga tosikattira na mu kubijuliza. Ŋŋenda okubikuyigiriza kaakano olyoke oyige okwesiganga Mukama. Nkuwandiikidde emboozi amakumi asatu, ezijjudde eby'okuyiga n'ebibuulirira. Zijja kukuyigiriza, omanye amazima g'otobuusabuusaamu, olwo abakutumye okuganoonya, onoobakomezangawo g'ozudde. Toyiikirizanga mwavu, olw'okuba nga ye teyeesobola; wadde okunyigiriza omunaku awasalirwa omusango; kubanga Mukama ye ajja okubalwanirira, era ajja kwesimba mu buli abatiisatiisa. Tokwananga bantu ba kasunguyira, abasunguwala ne basuukira; sikulwa ng'oyiga emize gyabwe ate n'olemwa okugivaamu. Tobanga omu ku abo abeeyama, okusasula amabanja g'abalala. Bw'olemwa okugasasula, batwala n'ekitanda ky'osulako. Tojjululanga kabonero ka nsalo ez'edda, bajjajjaabo ke baasimba. Omuntu anyiikira okukola, aba takyali mu bantu ba bulijjo; asaanira kubeeranga mu maaso ga bakabaka. Bw'otuulanga okuliira awamu n'omukungu, gendereranga nnyo ebiteekeddwa mu maaso go. Weefugenga bw'oba nga oli muyala nnyo. Tolulunkaniranga byassava by'agabula ayinza okuba ng'ayagala kukugeza alabe bw'ofaanana. Mu kukolereranga obugagga, beeranga mugezi olemenga kwetawaanya ekiyitiridde. Osimbira ki amaaso ku binaayita obuyisi? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro ng'empungu, ne bubuuka mu bbanga. Tolyanga mmere ya muntu eyeefaako yekka, wadde okululunkanira ebyassava by'agabula! Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, era ne kungulu bw'ali! Akugamba nti: “Lya, nywa,” naye mu mutima gwe, nga tali wamu naawe. Ojja kusesema by'olidde; n'ebigambo ebirungi by'oyogedde, bijja kukufa bwereere. Tobangako ky'obuulira omusiru, kubanga eby'amagezi by'oyogera ajja kubinyooma. Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, era toyingiriranga kibanja kya bamulekwa; kubanga Omulwanirizi waabwe, wa maanyi; omusango gwabwe, ye aliguwoza naawe. Ossangayo omwoyo ku bikuyigirizibwa, era obiwulirizanga. Tolekangayo kugolola mwana wo; okumukubako n'omuggo, tekijja kumutta, ate era okumukuba, kye kijja okuwonya obulamu bwe. Mwana wange, bw'obeera ow'amagezi, nange nsanyuka. Ddala nja kusanyukanga, bw'onooyogeranga eby'amagezi. Aboonoonyi tobakwatirwanga buggya, naye lumirwanga kussaamu Mukama kitiibwa ebbanga lyonna; kubanga ddala empeera weeri, n'essuubi lyo teririkufa bwereere. Mwana wange, teganga okutu kwo, obeerenga wa magezi; ofubenga okuluŋŋamya obulamu bwo. Tobanga mu abo abeekamirira omwenge, wadde mu abo abalulunkanira ennyama, kubanga omutamiivu n'omuluvu, balifuuka baavu, ne batuuka n'okwambala enziina. Wuliranga kitaawo eyakuzaala; era tonyoomanga nnyoko wadde ng'akaddiye. Owangayo ensimbi, okugula amazima n'amagezi, obuyigirize n'obugunjufu, naye tobitundanga. Kitaawe w'omuntu omulungi, anaasanyukanga nnyo; n'oyo azaala ow'amagezi, anaamwenyumiririzangamu. Osaanye osanyuse kitaawo ne nnyoko, omukazi eyakuzaala ajaganye. Mwana wange, ssaayo nnyo omwoyo ku bye nkugamba, era weetegereze empisa zange. Omukazi malaaya, lukonko oluwanvu; n'abakazi abenzi, bunnya bwa kanyigo. Bakuteega ng'abanyazi, era baleetera abasajja bangi okusuula obwesigwa. Ennaku n'obuyinike bigwira ani? Baani ababeera n'ennyombo? Abeemulugunya be baani, n'abakubirwa obwereere embale? Bantu ki abamyuka amaaso? Be bantu abateekuula ku mwenge; abanoonya okunywa omuka ogw'ekika kino na kiri. Tokemebwa ng'otunuulira omwenge ogumyuse obulungi, ogunyirira mu giraasi, ogukka omumiro n'obuseeneekerevu. Oluvannyuma ofuna kubalagalwa, ng'ava okubojjebwa omusota; owulira kusonsomolwa, ng'alumiddwa embalasaasa. Olwo ojja kulaba ebintuntu ebitategeerekeka, otandike okwogera ebitakwatagana. Owulire ng'oli ng'agalamidde wakati mu nnyanja, era ng'oli ng'eyeewuubira waggulu, ku mulongooti. Ojja kugamba nti: “Bankubye ne sirumwa. Bankubye ne siwulira kantu. Nnaazuukuka ddi, nzireyo ngunoonye nate?” Tokwatirwanga bakozi ba bibi buggya, era teweegombanga kubeera nabo, kubanga balowooza bya bukambwe, era boogera bya kutabulatabula. Kyetaagisa amagezi, okussaawo omusingi gw'ennyumba, era kyetaagisa okuyiiya n'okutetenkanya, okugizimba; awali okumanya, ebisenge byayo bijjuzibwa ebyobugagga amakula, era ebirungi ebiteŋŋeenya. Omuntu omugezi ye wa maanyi, ddala omuntu omutegeevu ye w'obuyinza, kubanga okulwana olutalo, kyetaagisa okukola entegeka ez'ekikugu; era awaba abawi b'amagezi abangi, we wabeera emirembe. Eby'amagezi bisukkiridde nnyo omusiru era talina ky'ayinza kwogera, we basalira emisango. Ateekateeka okukola akabi, balimuyita kalinkwe. Omusiru buli ky'ateekateeka okukola, kiba kibi; era abantu beetamwa omunyoomi. Bw'onafuyira mu kiseera mw'ofunidde ebizibu, ddala amaanyi go gaba matono. Yamba abagenda okuttirwa obwemage, obawonye, baleme kutirimbulwa. Oyinza okugamba nti: “Ekyo saakitegeerako.” Oyo apima ekiri mu mutima takulaba? Oyo akuuma obulamu bwo akumanyi, era alikusasula, okusinziira ku by'okola. Mwana wange, lyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi. Ebisenge byagwo nga bwe bikuwoomera, manya nti n'amagezi bwe gatyo bwe gawoomera obulamu bwo. Bw'ogafuna, oliba bulungi gye bujja, by'osuubira birituukirira. Weewale okuba ng'abantu ababi: abateegera mu maka g'omulungi, era abateesa okumunyagako amaka ge mw'abeera. Omulungi ne bw'agwa emirundi emingi, ayimukawo buli mulundi; naye omuntu omubi bw'alijjirwa emitawaana, girimuzikiriza. Tosanyukanga, omulabe wo bw'agwibwako akabi; tojaganyanga, ng'asirittuse n'agwa, kubanga Mukama bw'alaba ng'okoze bw'otyo, anyiiga, n'alekera awo okumusunguwalira. Toggweebwangako mirembe olw'abo abakola ebibi, era tobakwatirwanga buggya, kubanga omubi talifuna birungi gye bujja, era alizikira ng'ettaala. Mwana wange, ossangamu ekitiibwa Mukama ne kabaka; era teweetabanga n'abo abaagala okujeema, kubanga emitawaana egiribajjira giribagwako bugwi, era tewali amanyi bwe giryenkana. Era na bino byayogerwa abo ab'amagezi: okusosola mu bantu ng'osala emisango, si kituufu. Oyo agamba eyazza omusango nti: “Ggwe mutuufu,” abantu banaamukolimiranga, era anaakyayibwanga buli omu. Naye abo ababonereza omusobya, banaafunanga essanyu, era banaabeeranga n'omukisa. Okuddamu ekituufu, ke kabonero k'omukwano. Sooka oteeketeeke bulungi emirimu gyo egy'ebweru, otereeze bulungi ennimiro yo, olyoke weezimbire ennyumba. Tolumirizanga muntu munno awatali nsonga ntuufu, era toyogeranga bya bulimba. Togambanga nti: “Ky'ankoze nange ndikimukola, ndimulumya nga bw'annumizza.” Nayita mu kibanja ky'omugayaavu, mu nnimiro ye ey'emizabbibu, amaggwa nga gaduumuukidde omwo, ng'ebunye omuddo yonna, n'olukomera lwayo olw'amayinja nga lugudde. Nagitunuulira ne ndowooza nnyo, ne mbaako kye njiga nti: oba oyagala, sumagira weebakeko, zinga emikono, owummuleko! Naye obwavu n'obwetaavu, birikulumba ng'omunyazi akutte ebyokulwanyisa. Era na zino ngero za Solomooni, basajja ba Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya, ze baakoppolola. Tussaamu Katonda ekitiibwa, olw'ebyo bye yakisa. Naye Kabaka, ekitiibwa tukimussaamu olw'ebyo by'annyonnyola. Kabaka by'alowooza, bizibu okumanya; bitwesudde ng'eggulu mu bbanga, era ng'okukka kw'entobo y'ennyanja. Bw'oyokya n'oggyamu obucaafu mu ffeeza, omuweesi amukuweesezaamu ky'oyagala. Ggyawo mu maaso ga kabaka abawi b'amagezi ababi, olabe obufuzi bwe bwe bujjula obwenkanya. Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, era teweeteekanga mu kifo kya bakulu. Kiba kirungi okukuyita nti: “Sembera eno”, okusinga lwe bakutoowaza mu maaso g'omukungu. By'oba olabye toyanguwanga kubiraalaasa, balemenga kubikutuuzaamu n'obulwa eky'okukola! Bw'obangako ensonga ne munno, muginnyonnyolaganenga mwembi. Ebadde ey'ekyama, togimanyisanga balala, awulira ekyama ekyo alemenga kukusunga, n'osigala ng'oswadde. Ekigambo ekirungi ekyogerwa mu kaseera akatuufu, kiri ng'ebibala ebyengedde ebifaanana zaabu, era ebiteekeddwa ku ssowaani eya ffeeza. Ow'amagezi by'abuulirira omuntu eyeetegese okuwuliriza, biri ng'empeta y'omu kutu eya zaabu, oba eby'obuyonjo ebirala ebya zaabu. Omubaka omwesigwa, azzaamu amaanyi abaamutuma, ng'amazzi ag'okunywa agannyogoga, bwe gaweweeza abaganywa mu budde obw'ebbugumu. Oyo asuubiza ebirabo by'atagaba, ali ng'ebire n'empewo ebitavaamu nkuba. Okugumiikiriza, kuwooyawooya omufuzi; n'olulimi olugonvu, lugonza ow'obuyinza. Bw'osanga omubisi gw'enjuki, lyangako ogukumala obumazi, oleme kugukkuta kiyitiridde n'ogusesema. Tokyaliranga munno mirundi mingi, alemenga okukwetamwa n'akukyawa. Omuntu awaayiriza munne wa kabi ng'ennyondo n'ekitala, oba ng'akasaale akoogi. Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biseera eby'obuyinike, kuli ng'erinnyo erirwadde, n'okugulu okunuuse. Okuyimbira omuntu ali mu nnaku, kuba ng'okweyambulamu engoye, mu budde obw'empewo, oba okusiiga omunnyo mu kiwundu. Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga emmere n'alya; era bw'alumwanga ennyonta, omuwanga amazzi n'anywa. Bw'okola bw'otyo, olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi; era Mukama alikuwa empeera. Okugeya kuleeta obusungu, ng'embuyaga ez'obukiikakkono, bwe zireeta enkuba. Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, n'otaba na mukazi muyombi, mu nnyumba awagazi. Okuwulira amawulire amalungi agava mu nsi ey'ewala, kuli ng'okunywa amazzi amannyogovu ng'obadde olumwa ennyonta. Omuntu omulungi eyekkiriranya n'omubi, aba ng'oluzzi olusiikuuse, n'ensulo y'amazzi etabanguse. Nga bwe kitali kirungi okulya omubisi gw'enjuki omungi, era bwe kityo bwe kiri, omuntu okunoonya okuwaanibwa. Atamanyi kwetangira, ali ng'ekibuga ekirumbiddwa nga tekiriiko kigo. Ekitiibwa tekisaanira musiru, ng'omuzira bwe gutasaana kubaawo mu kyeya, n'enkuba mu budde obw'amakungula. Ebikolimo by'oteegwanyizza, tebikukwata. Biba nga nkazaluggya n'akataayi, ezimala gabuukabuuka. Ng'embalaasi bw'erina okukubibwa, n'endogoyi okusibwa enkoba, bw'atyo nno n'omusiru, bw'alina okuweweenyulwa emiggo. Ekibuuzo ky'omusiru tokiddangamu mu ngeri ya busiru, naawe oleme kumufaanana busiru. Wabula omusiru omuddangamu nga bw'asaanidde, ategeere ekibuuzo kye bwe kitabadde kya magezi nga bw'alowooza. Atuma omusiru okutwala obubaka, aba ng'eyeesalako ebigere, era yeereetera mitawaana. Omusiru okukozesa enjogera ey'amakulu, kiri ng'omulema okukozesa amagulu ge agaleebeeta obuleebeesi. Okussaamu omusiru ekitiibwa, kuba ng'okusibira ejjinja mu nvuumuulo. Omusiru okukozesa enjogera ey'amakulu, kiba ng'omutamiivu bw'agezaako okwetundula eriggwa mu kibatu kye. Ateekawo omusiru okumukolera omulimu, oba buli muyise gw'asanze obusanzi, aba ng'omulasi w'obusaale, alasa buli muntu. Omusiru addiŋŋana eby'obusiru, ali ng'embwa erya nate ebisesemye byayo. Omusiru wandibaako k'omusuubiramu, okusinga omuntu eyeeyita omugezi. Omugayaavu agamba nti: “Ebweru waliyo empologoma, siyinza kuva mu nnyumba kugenda kukola mirimu.” Omugayaavu yeekyusiza ku kitanda kye, ng'oluggi bwe lwekyusiza ku ppata zaalwo. Omugayaavu akoza emmere mu kibya, ne yeekanasa okugiteeka mu kamwa. Omugayaavu alowooza nti mugezi okusinga abantu abangi, aboogera batereeza ensonga. Omuntu ayitawo ne yeeyingiza mu mpaka ezitamukwatako, aba ng'omuntu akwata ku matu g'embwa gy'atamanyi; ali ng'omulalu akasuka amanda, agaaka omuliro, oba obusaale n'ebissi ebirala. N'oyo awubisa munne, n'agamba nti: “Mbadde nsaaga busaazi,” bw'atyo bw'aba. Ng'okumalawo enku zo bwe kuzikiza omuliro, n'omugeyi bw'avaawo, okuyomba kuggwaawo. Omuntu ow'empaka, akoleeza oluyombo, ng'amanda n'enku ebyo ebyongerwa mu kyoto, bwe bikoleeza omuliro. Emboozi y'ow'olugambo ewooma ng'emmere ekka omuntu mu lubuto. Ebigambo ebiwoomerevu ebikweka omutima omubi, biri ng'ekintu eky'ebbumba, ekisiigiddwako ffeeza. Omukuusa akweka obukyayi bwe mu bigambo ebikwenyakwenya. Bw'ayogera eby'ekisa, tobikkiriza, kubanga omutima gwe gukubyeko obukyayi. Obukyayi bwe, ne bw'abubikkako mu bukuusa, ebibi by'akola, biribwoleka abantu bonna mu lwatu. Oyo asima obunnya, alibugwamu; n'oyo ayiringisa ejjinja, lirimuddira. Omulimba akyawa abo b'alimba; era n'okuwaanawaana, kuleeta okuzikirira. Teweenyumirizanga lwa binaabaawo nkya, kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi. Lekanga abalaba, wadde bagwira, bakutendereze, naye sso si ggwe kwetendereza. Ejjinja n'omusenyu weewaawo bizitowa, naye emitawaana egireetebwa omusiru, gibisinga byombi obuzito. Obusungu n'ekiruyi bikambwe, era bizikiriza ebintu; naye tebyenkana buggya. Akubuulira ensobi yo n'atagikukisa akira agikukweka ng'ayagala okukulaga nti akwagala. Weesige mukwano gwo akunenya, naye sso si mulabe wo akuwaana. Wadde ebisenge by'omubisi gw'enjuki, omukkufu tabyetaaga; naye omuyala, n'ebyokulya ebikaayirira, abiyita biwoomerevu. Omuntu abuze n'ava awaka waabwe ali ng'ennyonyi ebuze n'eva mu kisu kyayo. Okubuulirirwa ow'omukwano akulumirwa, kusanyusa ng'omuzigo, n'ebyakawoowo ebyesiigibwa. Toyabuliranga mukwano gwo, wadde mukwano gwa kitaawo. Togendanga wa muganda wo ng'ofunye ekizibu. Muliraanwa akuli okumpi, akira owooluganda ali ewala. Mwana wange, beeranga wa magezi, onsanyusenga; olwo buli ananvumanga, ndyokenga nfune kye mmuddamu. Omuntu omwegendereza, alaba akabi nga kajja n'akeewala; naye oyo atalowooza, akatambaala, ne yejjusa luvannyuma. Kituufu otwale ekyambalo ky'oyo akiwaayo ng'omusingo, okweyimirira gw'atamanyi. Azuukuka ku makya ennyo n'aleekaana okulamusa munne, abalwa ng'amukolimira. Omukazi omuyombi, ali nga nkuba nnyingi, etonnya nga tekya, kizibu nnyo okumusirisa; kiba nga kuziyiza mpewo ekunta, oba okunyweza ekintu mu mukono, nga kiseerera amafuta. Kale ng'ekyuma bwe kiwagala kinnaakyo, n'omuntu bw'atyo bw'ayigiriza muntu munne. Alabirira omuti ogw'ebibala, anaalyanga ku bibala byagwo; n'oyo aweereza mukama we, anassibwangamu ekitiibwa. Ng'omuntu bwe yeeraba ng'atunudde mu mazzi, bwe gutyo n'omutima gwe bwe gumwoleka bw'ali. Era ng'emagombe bwe watajjula baafa, n'amaaso g'abantu, bwe gatakkuta kulaba. Nga ffeeza ne zaabu bwe bitukuzibwa akabiga k'omuliro, n'omuntu gwe batendereza, bw'atyo bw'amala okugezebwa. Omusiru ne bw'omukuba okujula okumutta obussi, era obusiru bwe tebumuvaako. Beera munyiikivu okulabirira embuzi zo, n'endiga zo n'ente zo, kubanga obugagga tebubeerera, n'engule y'obwakabaka, tesikirwa mirembe gyonna. Omuddo bwe gukala n'omulala ne gumera, n'ogw'oku nsozi ne gukuŋŋaanyizibwa, lw'olyekolera ebyokwambala, mu byoya by'endiga zo; n'otunda ne ku mbuzi zo, ne weegulira ebibanja. Onoofunanga amata agakumala ggwe n'ab'omu maka go, ne ganywebwako n'abakozi bo. Ababi badduka nga tewali abagoba; naye abalungi, baba bazira ng'empologoma. Eggwanga omuba obutabanguko liba n'abafuzi bangi; naye bwe lifuna omufuzi ow'amagezi era omutegeevu, litebenkera. Ow'obuyinza anyigiriza abaavu, ali ng'enkuba erimu kibuyaga, ezikiriza emmere yonna. Atassaamu mateeka kitiibwa, awagira ababi; naye oyo agakwata, abalwanyisa. Abantu ababi, tebategeera bwenkanya; naye abassaamu Mukama ekitiibwa, babutegeera bulungi. Okuba omwavu omwesimbu, kusinga okuba omugagga omukumpanya. Omwana akwata amateeka, wa magezi; naye akwana bakirimululu, aswaza kitaawe. Eyeegaggawaza ng'aseera afune amagoba, obugagga bwe abukuŋŋaanyiza oyo, akwatirwa ekisa abaavu. Agaana okuwulira amateeka, okwegayirira kwe, Katonda akwenyinyala. Akyamya omulungi n'amukozesa ekibi, yennyini aligwa mu bunnya bw'asimye; naye abatalina musango, balifuna ebirungi. Omugagga alowooza nti wa magezi; naye omwavu eyeetegereza, amutegeera. Omulungi bw'afuna obuyinza, wabaawo okujaguza; naye omubi bw'akuzibwa, abantu beekweka. Akweka ebibi bye yakola, taliba bulungi; naye buli abyatula n'abyenenya, abisonyiyibwa. Assaamu Mukama ekitiibwa bulijjo, aliba wa mukisa; naye amujeemera, aligwa mu kabi. Omufuzi omubi afuga abaavu, ali ng'empologoma ewuluguma, n'eddubu eyeetala okutaagula. Omufuzi atafa ku bantu, aba mukambwe; naye oyo akyawa obulyake, anaalwanga ku bufuzi. Omuntu bw'azza ogw'obutemu, asaana abenga mubungeese okutuusa lw'alifa, era walemenga kubaawo amuyamba. Akolera ku bwesimbu, aliba bulungi; naye atali mwenkanya, alimenyekawo mangu. Omulimi omunyiikivu, aliba n'emmere nnyingi; naye ayita n'abagayaavu, anabeeranga mwavu. Omuntu omwesigwa, alifuna emikisa; naye abuguutanira okugaggawala, talirema kubonerezebwa. Okusosola mu bantu, kibi; naye abantu bakola ebibi olw'okufuna ke banaalya. Omuntu eyeefaako yekka, abuguutanira okwegaggawaza, sso n'atamanya nti obwetaavu bulimutuukako. Agolola munne ensobi, oluvannyuma aliganja, okusinga amuwaanawaana. Buli alowooza nti si musango okubba ebintu bya kitaawe oba ebya nnyina, aba wa kinywi kimu n'omutemu. Alulunkanira ebintu, aleeta ennyombo; naye eyeesiga Mukama, anaabanga n'omukisa. Eyeesiga ye by'alowooza, oyo aba musiru; naye oyo agoberera ebimuyigirizibwa ab'amagezi, ye aliba obulungi. Agabira abaavu, taabenga mu bwetaavu; naye omuntu abalaba n'atabafaako, alikolimirwa bangi. Ababi bwe baba mu buyinza, abantu beekweka; naye bwe bawanulwa ku bufuzi, abantu abalungi beeyongera okwala. Omuntu anenyezebwa emirundi emingi n'akakanyalira mu nsobi, alimenyeka nga tamanyiridde, n'atasobola kuwonyezebwa. Ng'abantu abalungi be bafuga, abantu basanyuka; naye ababi bwe baba mu buyinza, abantu basinda. Ayagala amagezi, asanyusa kitaawe; naye abeera ne bamalaaya, amalawo ebintu bye. Kabaka bw'alumirwa obwenkanya, ensi ye etereera; naye bw'aba asaba enguzi, ensi agittattana. Omuntu awaanawaana munne, aba amutega kitimba. Omuntu omubi, akwatirwa mu nsobi ze; naye omulungi, asanyuka n'ayimba. Omulungi amanya ebyo, abaavu bye bagwanira okuweebwa; naye omubi, tabirowoozanako. Abantu abatalumirwa balala basasamaza ekibuga; naye abantu abategeevu, bakkakkanya obusungu. Omuntu ow'amagezi bw'awakana n'omusiru, omusiru asunguwala, oba asekereza, n'aleetawo okucankalana. Abaagala okutemula, bakyawa atalina musango; naye abantu abalungi, bafuba okutaasa obulamu bwe. Omusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya. Omufuzi bw'awuliriza eby'obulimba, abakungu be bonna baba babi. Omwavu, n'oyo amunyigiriza, balina ekibagatta: bombi Mukama ye abawa ekitangaala ne balaba. Kabaka asala emisango gy'abaavu mu bwenkanya, obwakabaka bwe bunaanyweranga ennaku zonna. Okugolola n'okukangavvula, biyigiriza; naye omwana alekerwa awo, aswaza nnyina. Ababi bwe baba mu buyinza, okuzza emisango kweyongera; naye abalungi baliraba okugwa kw'ababi abo. Kangavvulanga omwana wo, anaakweyagazanga, era anaakuleeteranga okuwulira essanyu. Awatali kuluŋŋamizibwa Katonda, abantu bacankalana; naye akwata Amateeka, wa mukisa. Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo, kubanga ne bw'ategeera, tassaayo mwoyo. Omusiru wandibaako k'omusuubiramu, okusinga oyo afubutukira ebigambo. Aginya omuweereza we okuva nga muto, oluvannyuma alimukikinalako. Omuntu ow'akasunguyira, awakula ennyombo; n'ow'ekiruyi, agwa mu nsobi nnyingi. Okwekuza kw'omuntu, kumutoowaza; naye omwetoowaze mu mutima, aweebwa ekitiibwa. Assa ekimu n'omubbi, akyawa bulamu bwe; ne bwe bamulayiza, takwekula mazima. Oyo atya obutyi abantu, yeesuula mu kabi; naye eyeesiga Mukama, aba n'emirembe. Bangi abaagala okuganja mu bakulu; naye Mukama ye atufuula abenkanya. Omuntu omubi, akyawa ow'empisa ennungi, n'ow'empisa ennungi, akyawa omuntu omubi. Bino bye bigambo bya Aguri, mutabani wa Yaake ow'e Messa, bye yagamba Yitiyeeli, Yitiyeeli oyo ne Wukali, nti: “Mazima nze muntu asingayo obusiru era siriimu magezi ga muntu. Siyiganga magezi, wadde okumanya ebifa ku Katonda. Ani yali alinnye mu ggulu, ate n'awanukayo n'akka? Ani yali awumbidde empewo mu bikonde bye? Ani yali akuumidde amazzi mu kyambalo kye? Ani yateekawo ensalo zonna ez'ensi? Erinnya lye ye ani, ne mutabani we ye ani, oba ng'omanyi? Katonda atuukiriza buli ky'asuubiza; era Ye, ye ngabo, ekuuma abamwesiga. Era ebigambo bye, tobikookerangako bibyo, aleme okukunenyanga n'ayoleka obulimba bwo.” Nkusaba ebintu bibiri, ayi Katonda, obimpe nga sinnafa: mponya ebikyamu n'obulimba, tompanga bwavu, wadde obugagga, naye ompenga ebyokulya bye neetaaga; nnemenga okukkuta ekiyitiridde, ne nkwegaana ng'aŋŋamba nti: “Mukama ye ani? Simwetaaga”; era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumaganya erinnya lyo, ayi Katonda wange. Towaayirizanga muweereza eri mukama we, alemenga okukukolimira, n'ovunaanibwa omusango. Waliwo abakolimira bakitaabwe, era ne batasabira bannyaabwe mikisa. Waliwo abalowooza nti balongoofu, sso nga balina ebibi, bye basaanye okwenenya, bibasonyiyibwe. Waliwo abantu abalaba nti bo ba waggulu nnyo, era ne balowooza nti be basinga abalala bonna. Waliwo abakozesa obukambwe okunyuunyunta abaavu n'abateeyamba, bo beefunire ebibayimirizaawo. Okwegomba kumanyi ebigambo bibiri byokka: ekisooka, “Mpa” n'ekyokubiri, “Mpa.” Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, ddala biri bina ebitamatira: Ebyo ge magombe, n'enda y'omukazi omugumba, ensi enkalu erakasidde, n'omuliro mutakkutanku. Amaaso g'oyo anyooma kitaawe, oba ag'oyo agaana okuwulira nnyina, gasaanye gaggyibwemu binnamuŋŋoona eby'omu kiwonvu, era gabojjogolwe ensega. Ebintu bisatu ebyannema okutegeera, ddala biri bina bye simanyi: engeri bino gye bimanyaamu ekkubo lye binaayitamu: empungu ebuukira mu bbanga, omusota ogwewalulira ku lwazi, eryato eriseeyeeya mu buziba bw'ennyanja, n'engeri omukwano gye gujja wakati w'omusajja n'omukazi! Eno ye nkola y'omukazi omwenzi: olumala okwenda, anaaba ne yeesaanya, olwo n'agamba nti: “Siriiko kibi kye nkoze.” Waliwo ebintu bisatu ebikankanya ensi, biri bina by'eteyinza kugumiikiriza: omuddu okufuuka kabaka, n'omusiru okuba na buli kye yeetaaga; omukazi kibijjigiri okufumbirwa, n'omuzaana okusikira mugole we. Ku nsi kuliko ebintu bina ebitono, naye ebirina amagezi amangi ennyo: enkuyege, kale buntu obutalina maanyi, naye bweterekera bye bunaalya mu kyeya. Obumyu nabwo si bwa maanyi, naye bwezimbira amaka mu mayinja. Enzige tezirina kabaka, naye zikumbira mu bibinja. Omunya mwangu okukwata, n'oguteeka mu kibatu; naye gubeera ne mu mbiri za bakabaka. Waliwo ebintu bisatu ebikumba n'oyagala, ddala biri bina ebitambuza essimbo: empologoma ekira amaanyi mu nsolo endala zonna, tewali ndala gy'etya; embwa enjizzi, ennyonyi muzinge, sekkokko empanga, n'embuzi ennume, ne kabaka ali n'eggye lye. Bw'obanga okoze eky'obusiru ne weekuluntaza, oba n'oteesa okukola ekibi, osirikanga n'olowooza; kubanga okusunda amata nga bwe kuleeta omuzigo, n'okunyigiriza ennyindo nga bwe kugireeta omusaayi, bwe kutyo n'okusitula obusungu, bwe kuvaamu ennyombo. Bino bye bigambo bya Lamweli Kabaka wa Massa, nnyina bye yamuyigiriza: ayi mwana wange gwe nneezaalira, omwana wange ow'obulenzi, omwana gwe nawongera Mukama! Amaanyi go, togamaliranga ku bakazi; bazikirizza ne bakabaka! Lamweli, wulira: tekigwanira bakabaka okunywanga omwenge, n'okululunkanira buli ekitamiiza. Sikulwa nga bwe bagunywa, beerabira amateeka; era abanyigirizibwa, ne batabasalira mazima. Omwenge nno guwenga ayagala okuzikirira, n'omuntu oyo alina ennyo obuyinike. Oyo anywe, yeerabire obwavu bwe, era alemenga okujjukira ennaku ye. Yogereranga abatalina bwogerero, olwanirirenga abataliiko mwasirizi. Yogeranga, olwanirire obwenkanya, otaasenga eby'abaavu n'eby'abali mu bwetaavu. Ani ayinza okuzuula omukazi ow'empisa ennungi? Omukazi oyo asinga wala amayinja ag'omuwendo ennyo. Bba amwesiga, era amufunamu omugaso. Omukazi oyo, mu bulamu bwe bwonna, ayisa bulungi bba, era tamutuusaako kabi. Anoonya ebyoya by'endiga era ne ppamba, n'aluka engoye ng'asanyuka. Ali ng'amaato g'abasuubuzi; emmere agiggya n'ebunaayira. Azuukuka ku makya nga tebunnalaba, n'ategekera ab'omu maka ge ebyokulya, era n'alaga abakozi be abawala eby'okukola. Alaba ekibanja n'akigula, n'akozesa ensimbi ze n'akisimbamu emizabbibu. Anyiikira okukola n'amaanyi, ng'akozesa emikono gye. Alaba omugaso gw'ebyo by'akola, n'alyoka akola n'ekiro ku ttaala. Yeerangira ewuzi ze, yennyini n'aluka engoye ze. Wa kisa mu kugabira abaavu, era ayamba abali mu bwetaavu. Obudde ne bwe bunnyogoga, tabutya, kubanga ab'omu maka ge, abambaza ne babuguma. Yeekolera engoye ennungi, ayambala ziri ennyirivu eza ppamba, awamu n'eza siliki. Bba, amanyiddwa bulungi, bw'atuula ne banne abataka awaba embuga ku miryango. Omukazi oyo atunga ebyambalo n'atunda. Akola n'enkoba, n'aziguza omusuubuzi azeetaaga. Wa maanyi era waakitiibwa, atatya ebigenda okujja. Ayogera bya magezi, era abuulirira na kisa. Alabirira ab'omu maka ge, era tali ku bya bugayaavu. Abaana be bagamba nti nnyaabwe wa mukisa. Ne bba amutendereza nti: “Abakyala bangi abeegendereza, naye ggwe obasinga bonna!” Okuba n'amaaso agasikiriza, kulimbalimba, n'obubalagavu tebugasa; naye omukazi assaamu Mukama ekitiibwa, ye agwanira okutenderezebwa. Oyo mumuwe ku by'akoleredde, era kituufu atenderezebwe, bonna we bakuŋŋaanidde. Bino bye bigambo by'Omubuulizi eyali mutabani wa Dawudi, era nga kabaka mu Yerusaalemu. Omubuulizi oyo agamba nti tewali kirimu makulu, ddala byonna temuli makulu. Magoba ki omuntu g'afuna mu kutegana kwe kwonna kw'ateganira ku nsi? Omulembe gugenda, omulembe omulala ne gujja, kyokka yo ensi ebeerawo ennaku zonna. Enjuba evaayo, era n'egwa, ne yeeyuna okudda mu kifo kyayo gy'eva. Empewo ekunta ng'edda ebukiikaddyo, n'ekyuka n'edda ebukiikakkono, ne yeetooloola ng'ekunta, n'edda gye yavudde. Emigga gyonna gikulukuta giyiwa mu nnyanja, kyokka ennyanja tejjula. Emigga gye giyiwa amazzi gaagyo, era eyo gye gyongera okuyiwa. Ebintu byonna bikooya, bireetera omuntu okwetamwa mu ngeri eteyogerekeka. Amaaso tegakkuta kulaba, n'amatu tegakkuta kuwulira. Ebyali bibaddewo bye binaddangamu okubaawo, era ebyali bikoleddwa bye binaddangamu okukolebwa. Tewali kintu kipya ku nsi. Waliwo ekintu kye bayinza okwogerako nti: “Laba kino kipya?” Tekiba kipya, kiba kyabaawo dda mu mirembe egy'edda, ffe nga tetunnabaawo. Eby'edda tebijjukirwa, era n'ebyo ebirijja tebirijjukirwa abo abalibaawo nga byo bimaze okubaawo. Nze Omubuulizi nali kabaka wa Yisirayeli mu Yerusaalemu. Nassaayo nnyo omwoyo, ne nkozesa amagezi gange okunoonyereza n'okwetegereza byonna ebikolebwa ku nsi, ne nzuula nga byonna gwe mulimu omuzibu era omukalubo, Katonda gwe yateerawo abantu. Natunuulira emirimu gyonna egikolebwa ku nsi, ne ndaba nga gyonna gikooyeza bwereere, era okugikola, kuba nga kugoba mpewo ogikwate. Ekikyamye tekiyinza kugololwa, n'ebitaliiwo tebiyinza kubalibwa. Nalowooza mu mutima gwange nti: “Nfuuse muntu waakitiibwa nnyo, era omugezi okusinga bonna abansooka okufuga mu Yerusaalemu. Ddala nfunye amagezi mangi era n'okutegeera.” Nassaayo nnyo omwoyo okumanya ebifa ku magezi, n'okumanya ebifa ku ddalu n'obusiru, ne ndaba nga nabyo kuba nga kugoba mpewo ogikwate. Kubanga gy'okoma okuba n'amagezi amangi, gy'okoma n'okusoberwa, era gy'okoma okumanya ebingi gy'okoma n'okunyolwa. Nalowooza mu mutima gwange nti: “Kale nno ka ngezeeko ebinyumu, nneesanyuse.” Naye ne ndaba nga n'ekyo temuli makulu. Nagamba nti: “Okudda awo okusekereza, ddalu jjereere, n'amasanyu tegalina kalungi kagavaamu.” Era mu kunoonya amagezi, aganaaluŋŋamya omutima gwange, nalowooza ku ky'okwesanyusa nga nnywa omwenge, mmalirewo ebiseera byange, nga ndowooza nti oboolyawo ekyo abantu kye bagwanira okukola ku nsi ennaku zonna ez'obulamu bwabwe. Neekolera ebintu ebikulu: nazimba amayumba, nasimba ennimiro z'emizabbibu. Nalima ensuku n'ennimiro, ne nsimbamu emiti egy'ebibala ebya buli ngeri. Nasima ebidiba by'amazzi okufukiriranga ekibira mwe gyasimbibwa. Nagula abaddu n'abazaana, era n'abamu baazaalirwa mu maka gange. Nalina amagana mangi ag'ente n'endiga n'embuzi okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemu. Nakuŋŋaanya ffeeza ne zaabu n'ebyobugagga ebirala bingi okuva mu matwale ge nfuga, era neeteekerawo abasajja n'abakazi abaakolanga ogw'okunnyimbira ennyimba, era nalina byonna ebiyinza okusanyusa omuntu. Nali waakitiibwa nnyo okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemu, era nasigala nga ndi mugezi. Buli kintu kye neegombanga, nakyetuusangako. Siriiko ssanyu na limu lye nagaana kwewa. Nasanyukira byonna bye nakola, era ekyo ne kiba omugabo gwange olwa byonna bye nakola. Ebyo nga biwedde, natunuulira ebyo byonna bye nali nkoze, era n'okutegana kwange kwonna, ne ndaba nga byonna kwali kuteganira bwereere. Ddala kwali nga kugoba mpewo ogikwate. Ate ndaba nga ku nsi kuno tewali kintu na kimu kirina mugaso. Bwe nava awo, ne ngeraageranya amagezi n'eddalu n'obusiru, kubanga kabaka talina kipya ky'ayinza kukola ekitaakolebwa dda bakabaka abaamusooka. Awo ne ndaba ng'amagezi malungi okusinga obusiru, ng'ekitangaala bwe kiri ekirungi okusinga ekizikiza. Omuntu omugezi alaba gy'agenda, naye omusiru atambulira mu kizikiza. Wabula era mmanyi ng'enkomerero yaabwe ye emu. Olwo ne ndowooza mu mutima gwange nti: “Ekituuka ku musiru, nange kye kirintuukako. Kale nze nabeerera ki omugezi?” Kyennava ŋŋamba mu mutima gwange nti n'ekyo tekiriimu mugaso. Omugezi tajjukirwa, era ng'omusiru bw'atajjukirwa mirembe gyonna, kubanga byonna ebiriwo kati biryerabirwa mu biseera ebigenda okujja, era buli muntu alifa, k'abe mugezi oba musiru. Ekyo kyankyayisa obulamu, kubanga byonna ebikolebwa ku nsi byantama. Byonna tebiriimu mugaso, era biri nga kugoba mpewo ogikwate. Awo ne nkyawa byonna bye nali nkoze ku nsi, kubanga ndi wa kubirekera oyo alinziririra. Era ani amanyi oba ng'oyo aliba mugezi oba aliba musiru? Kyokka oyo ye alyefuga byonna bye nakola ku nsi, era bye nayolesezaamu amagezi gange. Era n'ekyo tekiriimu mugaso. N'olwekyo natuuka n'okwejjusa nti: “Natawaanira ki bwe ntyo ku nsi!” Kubanga omuntu ayinza okukola emirimu n'amagezi n'obukugu era n'obwegendereza, kyokka byonna by'akoze n'abirekera muntu mulala atabiteganidde. Ekyo nakyo tekiriimu mugaso, era kibi nnyo. Kale omuntu afuna ki mu kufuba kwe n'okutegana kwe kw'ateganamu ku nsi? Kubanga ekiseera kyonna eky'obulamu bwe akimala mu buyinike bwereere, na mu kweraliikirira, n'atawummula emisana n'ekiro. N'ekyo nakyo tekiriimu mugaso. Ekisinga okugasa omuntu kwe kulya n'okunywa n'okwesanyusiza mu ebyo by'akoleredde. Era n'ekyo nalaba ng'okusobola okukikola, guba mukisa Katonda gw'awa omuntu. Kubanga Katonda w'atali, ani ayinza okulya n'okusanyuka? Katonda, abamusanyusa abawa amagezi n'okutegeera era n'essanyu, kyokka aboonoonyi abawa gwa kukuŋŋaanya na kutereka bugagga, babuwe abo abamusanyusa. Era n'ekyo tekiriimu mugaso, kiri nga kugoba mpewo ogikwate. Buli kintu ekibeerawo ku nsi, kiba n'obudde bwakyo, na buli ekikolebwa, kiba n'ekiseera kyakyo ekituufu. Ekiseera eky'okuzaalirwamu, n'ekiseera eky'okufiiramu; ekiseera eky'okusimbiramu n'ekiseera eky'okusimbuliramu ekiseera eky'okuttiramu n'ekiseera eky'okuwonyezaamu; ekiseera eky'okumenyeramu, n'ekiseera eky'okuzimbiramu; ekiseera eky'okukaabiramu amaziga, n'ekiseera eky'okusekeramu; ekiseera eky'okukungubagiramu, n'ekiseera eky'okuziniramu; ekiseera eky'okusaasaanyizaamu amayinja, n'ekiseera eky'okukuŋŋaanyizaamu amayinja; ekiseera eky'okugwiramu mu kifuba, n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifuba; ekiseera eky'okuzuuliramu, n'ekiseera eky'okubulirwamu, ekiseera eky'okukuumiramu ekintu, n'ekiseera eky'okusuuliramu ekintu; ekiseera eky'okuyulizaamu, n'ekiseera eky'okutungiramu; ekiseera eky'okusirikiramu, n'ekiseera eky'okwogereramu; ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'olutalo, n'ekiseera eky'emirembe. Magoba ki omuntu g'afuna mu by'ateganira? Nalaba okutegana Katonda kwe yateerawo abantu okuteganangamu. Yakola buli kintu, nga kigya bulungi mu kiseera kyakyo. Abantu yabateekamu omutima ogwagala okumanya ebyaliwo, n'ebiriwo, n'ebiribaawo, kyokka n'atabawa kumanya ye Katonda by'akola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero. Mmamyi nga tewali kigasa muntu okusinga okusanyuka n'okukola ebirungi ennaku zonna ez'obulamu bwe. Era omuntu okulya n'okunywa n'okusanyukira mu birungi by'ateganidde, kiba kirabo kya Katonda. Mmanyi nga buli kintu Katonda ky'akola, kibeerawo ennaku zonna, era tewali kiyinza kukyongerwako, wadde okukikendeezebwako. Katonda yakola bw'atyo, abantu balyoke bamussengamu ekitiibwa. Ebiriwo byali bibaddewo, era n'ebiribaawo byali bibaddewo edda. Katonda alagira ebyali bibaddewo ne biddamu okubaawo. Era nalaba nga ku nsi awandibadde amazima n'obwenkanya, wabeerawo bikolwa bibi. Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Katonda alisalira abalungi n'ababi omusango, kubanga buli kintu na buli kikolwa kiba n'ekiseera kyakyo. Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Katonda ageza abantu, alyoke abalage nti nabo bennyini bali ng'ebisolo, kubanga ekituuka ku bantu kye kimu ekyo era ekituuka ku bisolo. Ng'ensolo bw'efa, n'omuntu bw'atyo bw'afa, era omukka omuntu gw'assa, n'ensolo gw'essa, ne kiraga nti omuntu talina nkizo ku nsolo, era obulamu bw'omuntu n'obw'ensolo tebuliimu makulu. Byombi, omuntu n'ensolo, bidda mu kifo kye kimu: mu nfuufu mwe byava. Byava mu nfuufu, era bigenda kudda mu nfuufu. Ani amanyi oba ng'omwoyo gw'omuntu gwambuka waggulu, ate nga ogw'ensolo gwo gukka wansi mu ttaka? N'olwekyo, neetegerezza ne ndaba ng'ekisinga obulungi, omuntu kwe kusanyukira mu ebyo by'akoze, kubanga eyo ye mpeera ye, kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo, ye ng'amaze okuvaawo? Bwe nava ku ebyo, ne ndowooza ku butali bwenkanya obuli mu nsi. Abanyigirizibwa bakaaba amaziga, ne batafuna abayamba. Tebafuna abayamba, kubanga abo ababanyigiriza be bali mu buyinza. Ekyo kyandeetera okulowooza nti abafu abaafa edda, beesiimye okusinga abo abakyali abalamu. Naye eyeesiimye okusinga abo ab'emirundi egyo gyombi, ye oyo atabangawo, atalabanga bibi ebikolebwa ku nsi. Era nalowooza ku kikozesa abantu emirimu: bakola nnyo kubanga beegomba okufuna ebirungi ebiri ng'ebya bannaabwe, oba n'ebisingawo. Naye n'ekyo temuli makulu, era kiri nga kugoba mpewo ogikwate. Omusiru azinga emikono, ne yessa enjala. Okufuna ebijjuza olubatu olumu ng'olina emirembe, kisinga okufuna ebijjuza embatu ebbiri ng'otegana, ng'oli ng'agoba empewo ogikwate. Awo ne nziramu okulowooza ku birala ebitaliimu mugaso ku nsi. Wabaawo omuntu abeera yekka nga talina mwana wadde owooluganda, sso ng'akola obutaweera, era nga tamatira na bugagga bw'alina. Kale mba nteganira ani okwenkana awo, ne nemma okusanyukako? Kino nakyo tekiriimu makulu, era kwerumya bwerumya! Abantu ababiri basinga omuntu omu, kubanga bwe bakolera awamu, bayambagana. Bwe bagwa, omu ayamba munne okuyimuka. Naye omuntu bw'aba yekka, n'agwa, ziba zimusanze, kubanga tewaba amuyamba kuyimuka. Mu budde obw'empewo, ababiri bwe beebaka awamu mu buliri, babuguma; naye omu yekka ayinza atya okubuguma! Abantu ababiri basobola okulwanyisa omulabe eyandiwangudde omuntu omu ng'alwana yekka, n'omuguwa ogw'emiyondo esatu si mwangu kukutula. Omuvubuka omwavu naye nga mugezi, asinga kabaka omukadde atalina magezi era atakyayagala kubuulirirwa. Omuntu ayinza okuzaalibwa mu nsi ye nga mwavu oba okuva mu kkomera, n'afuuka kabaka. Nalaba abantu bonna ku nsi nga bali wamu n'omuvubuka omulala eyadda mu bigere bya kabaka. Kabaka ayinza okuba n'abantu abangi b'afuga, naye bw'akisa omukono, tewali ajjukira birungi bye yakola. Kino nakyo tekiriimu makulu, era kiri nga kugoba mpewo ogikwate. Weegenderezenga ng'oyingidde mu Ssinzizo. Okusembera okumpi n'owuliriza oyige, kisinga okumala gawaayo bitambiro ng'abatategeera bwe bakola, kubanga tebamanyi nga kye bakola kibi. Ofuganga olulimi lwo, era toyanguyirizanga kubaako ky'oyogera mu maaso ga Katonda, kubanga Katonda ali mu ggulu, ggwe oli ku nsi. Kale ebigambo byo bibeerenga bitono, kubanga omuntu by'atawaanamu, by'aloota. N'omusiru amanyirwa ku bingi by'ayogera. Bw'obangako kye weeyamye eri Katonda, oyanguwanga okukituukiriza, kubanga Katonda tasanyukira basiru. Tuukirizanga kye weeyamye okukola. Waakiri oleme kweyama, okusinga lwe weeyama n'ototuukiriza. Toganyanga kamwa ko kukukozesa kibi, oluvannyuma n'ogamba omubaka wa Katonda nti wayogedde togenderedde. Lwaki oyogera ebinaasunguwaza Katonda n'azikiriza bye wakolerera! Okulowooza ebingi ng'oli ng'aloota, kye kireetera omuntu okwogera ebitaliimu makulu. Naye ggwe otyanga Katonda. Bw'olabanga abaavu nga banyigirizibwa, era nga tebakolerwa bya bwenkanya na mazima mu ggwanga, teweewuunyanga, kubanga omukungu atunuulirwa oyo amusinga, era n'oyo n'atunuulirwa abo abamusinga okuba n'obuyinza. Okutwalira awamu, ettaka ligasa bonna, ne kabaka yennyini aganyulwa ebiva mu nnimiro. Omuntu ayagala ensimbi tayinza kuzikkuta, era n'oyo ayagala obugagga, n'amagoba gaamu, taabikkutenga. Era n'ekyo tekiriimu makulu. Ebintu bwe byeyongera okwala, n'abo ababirya beeyongera okuba abangi. Kale bannyini byo bafunamu magoba ki, okuggyako okubirabako obulabi n'amaaso! Omuntu akola n'emikono gye, yeebaka otulo ne tumuwoomera, ne bw'aba talina byakulya bimumala; kyokka omugagga asula teyeebase, ng'alowooza. Waliwo ekintu ekibi ennyo kye ndabye ekibeerawo mu nsi: bwe bugagga obuterekebwa nnyini bwo mu kwerumya okungi, kyokka obugagga obwo ne buzikirira olw'ebizibu ebitaalengererwawo, n'azaala omwana nga tewakyali ky'alinawo. Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliva ku nsi nga bwe yajja. Talibaako ky'ayinza kutwala ku bye yateganira byonna. Mazima ekyo si kya bwenkanya. Omuntu agenda ngalo nsa nga bwe yajja. Ategana, kyokka ali ng'agoba empewo agikwate! Kale magoba ki g'afuna? Ennaku ze zonna, alya munyiikaavu, yeeraliikirira nnyo, aba mulwadde, era musunguwavu. Ekirungi kye nalaba omuntu ky'asaanidde okukola, kwe kulya n'okunywa era n'okusanyukira mu birungi byonna bye yateganira obulamu bwe bwonna, Katonda bwe yamuwa ku nsi, kubanga ogwo gwe mugabo gwe. Buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, n'amusobozesa okubiryako, n'akkiriza omugabo gwe, n'okusanyukira mu by'ateganidde, ekyo kirabo kya Katonda, kubanga omuntu oyo tajja kulowoozanga ku kiseera kya bulamu bwe, kubanga Katonda amukuuma nga musanyufu mu mutima gwe. Waliwo ekintu ekibi kye nalaba ku nsi, era ekikaluubirira abantu: kye ky'omuntu Katonda gw'awa obugagga, n'ebintu, n'ekitiibwa, ne watabaawo muntu oyo ky'ajula, kyokka Katonda n'atakkiriza muntu oyo kubyeyagaliramu, wabula omuntu omulala ow'ebweru n'abyeyagaliramu. Ekyo tekiriimu makulu, era kiruma nnyo. Omuntu ayinza okuzaala abaana kikumi, era n'amala emyaka mingi ku nsi. Kyokka ne bw'awangaala atya, bw'aba tafunye ssanyu mu bulamu bwe, era nga taziikiddwa mu ngeri esaanidde, nze ŋŋamba nti omwana azaalibwa ng'afudde, asinga omuntu oyo. Omwana oyo weewaawo talina ky'agasibwa okuzaalibwa. Azaalibwa ng'ali mu kizikiza, n'agenda ng'ali mu kizikiza. Wabula newaakubadde aba talabye kitangaala, era nga takitegedde, aba awummudde okusinga oli, atasanyukidde mu birungi, wadde ng'awangadde emyaka enkumi bbiri. Ye n'ekirala, bombi tebagenda mu kifo kye kimu? Omuntu mu mirimu gye gyonna, ateganira kufuna kyakulya, wabula okwegomba kwe tekumatira. Omuntu ow'amagezi kiki ky'asingamu omusiru? N'omwavu kimugasa ki okuba omwegendereza? Okumatira ne ky'olabako, kusinga okululunkanira bye weegomba obwegombi. Ekyo tekiriimu makulu, kiri nga kugoba mpewo ogikwate. Buli kyali kibaddewo, kyatuumibwa dda erinnya. N'embeera y'abantu emanyiddwa: omuntu tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi. Ebyogerwa gye bikoma obungi, gye bikoma n'obutabaamu makulu, kale omuntu bimugasa ki? Ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe obumpi obutaliimu makulu, era obuyita obuyisi ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebiribaawo ku nsi, omuntu oyo ng'amaze okugivaako? Erinnya eddungi lisinga omuzigo ogw'akawoowo, n'olunaku omuntu lw'afiirako, lulungi okusinga lw'azaalibwa. Okuyingira mu nnyumba mwe bakungubagira afudde, kisinga okuyingira mu nnyumba mwe bagabulira obugenyi, kubanga okufa ye nkomerero ya bonna, era kirungi abalamu okugirowoozangako. Okulaba ennaku kugasa okusinga okusanyuka, kubanga ennaku ebangula omutima gw'omuntu. Omuntu omugezi afuna ekiseera okulowooza ku nnaku ye, naye omusiru yeemalira mu binyumu. Okunenyezebwa abagezi kusinga okutendebwa abasiru, kubanga enku ez'amaggwa nga bwe zitulikira mu kyoto wansi w'entamu, n'okuseka kw'omusiru bwe kutyo bwe kuba: tekubaamu makulu. Okunyigiriza abantu, omugezi kumufuula musiru, n'enguzi emalamu omuntu okutegeera. Ekintu ekiwedde obulungi, kisinga ekitandika obutandisi, n'omugumiikiriza asinga omwekuza. Toyanguwanga kusunguwala, kubanga omusiru ye abeera n'obusungu. Tobuuzanga nti: “Lwaki ebiseera ebyayita byali birungi okusinga bino ebiriwo kati?” Ekyo si kibuuzo kya magezi. Amagezi malungi ng'okusikira ebintu, era abalamu bonna gabagasa, kubanga amagezi kigo ekikuuma omuntu ng'ensimbi bwe zimukuuma. Naye okumanya kyekuva kusinga omugaso, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go. Lowooza ku ebyo Katonda bye yakola. Ani ayinza okugolola ekyo ye kye yaweta? Ebintu lwe bigenze obulungi, sanyuka; ate lwe bigenze obubi, manya nga Katonda ye ataddewo ebyo byombi, abantu baleme kutegeera bigenda kubaawo. Bino byombi mbirabidde mu bulamu bwange obutaliimu makulu: abantu abalungi bafa mangu, ate ababi ne bawangaala. N'olwekyo toyitirizanga kuba mulungi, wadde omugezi. Kale oba wettira ki? Wabula era toyitirizanga kuba mubi wadde omusiru, oleme kufa ng'ekiseera kyo tekinnatuuka. Kirungi weefugenga mu ebyo byombi, kubanga oyo atya Katonda, talema kubyewala. Alina amagezi, gamufuula wa maanyi okusinga abafuzi kkumi abali mu kibuga. Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere, n'atayonoona. Tossangayo mwoyo ku buli kimu abantu kye boogera, sikulwa ng'owulira n'omuddu wo ng'akwekokkola, kubanga omanyi bulungi nga naawe emirundi mingi weekokkola abalala. Ebyo byonna nabigezesa nga nkozesa amagezi gange, ne ŋŋamba nti: “Mmaliridde okuba omugezi.” Naye amagezi ne sigatuukako. Buli ekiriwo, kisukkiridde amagezi gaffe. Tetuyinza kukitegeerera ddala kukimalayo. Ani ayinza okukinoonyerezaako, n'akikomekkereza? Nneemalira ku kunoonya, n'okwekkaanya, n'okumanya amagezi, n'okutegeera ebintu nga bwe biri, era n'okumanya ng'okuba omubi kya busiru, era ng'obusiru ddalu. Era nalaba ekikakali okusinga olumbe kattira: ye mukazi. Okwagala kw'akulaga, kukukwata ng'omutego oba ng'ekitimba. Emikono gye gy'akuwambaatiza, gikusiba ng'enjegere. Oyo akola ebyo Katonda by'asiima, ye aliwona omukazi, kyokka oyo atali mwegendereza, aliwambibwa. Omubuulizi agamba nti: “Ekyo nakituukako nga nkubaganya nzekka ebirowoozo, okuzuula ekituufu.” Kye nayagala okumanya, naye nga sinnakizuula kye kino: mu bantu olukumi, nalabamu omusajja omu asaanira, naye mu abo bonna, omukazi simulabangamu. Wabula kino kyokka kye nalaba: Katonda yatonda abantu nga batereevu, naye bo ne beegunjirawo obukyamu obwa buli ngeri. Ani yenkana omugezi? Oba ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi ganyiriza entunula y'omuntu, n'obunyiikaavu bwe bwonna ne buggwaawo. Nze ŋŋamba nti gonderanga ekiragiro kya kabaka, kubanga bw'otyo bwe walayirira Katonda. Toyanguyirizanga kweggya ku kabaka, era tobeeranga ku ludda lwa bamuwakanya, kubanga kabaka ayinza okukola buli ky'ayagala. Kabaka ky'alagira, tekiddibwamu, era tewali ayinza kumubuuza nti: “Lwaki olagidde bw'otyo?” Abagondera ekiragiro kye, tebatuukibwako kabi, era omuntu omugezi, amanya obudde obutuufu, n'engeri esaanira okukituukiririzaamu. Kubanga buli kintu kiba n'ekiseera kyakyo ekituufu okukikoleramu, newaakubadde ng'omuntu aba n'obuzibu bungi, kubanga tamanya bigenda kubaawo, era tewali ayinza kumutegeeza we biribeererawo. Tewali muntu alina buyinza kwesigaliza bulamu bwe, era tewali alina buyinza kusalawo lunaku lw'alifiirako. Ng'olutalo bwe lutaganya muntu kuluvaamu, n'ekibi bwe kityo tekita oyo akyewadde. Ebyo byonna nabiraba nga ndowoolereza ku byonna abantu bye bakola ku nsi, nga ndaba abantu bwe bafugisa bannaabwe obukambwe ne babalumya. N'ekirala, abantu ababi, kyokka abaagendanga emirundi emingi mu Kifo Ekitukuvu, nalaba nga baziikibwa mu kitiibwa era nga tebajjukirwa nti baali babi mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga eby'effujjo. Kale n'ekyo tekiriimu makulu. Ekibonerezo ekisalirwa akoze ekikolwa ekibi bwe kitaweebwa mangu, abantu beeyongerera ddala okukola ebibi. Omwonoonyi newaakubadde akola ebibi emirundi kikumi n'awangaala nnyo, kyokka era mazima mmanyi ng'abatya Katonda, abamussaamu ekitiibwa, be banaabeeranga obulungi. Naye omubi taabenga bulungi, era obulamu bwe, bunaayitanga mangu nga kisiikirize. Waliwo era ekirala ekitaliimu makulu ekibaawo ku nsi: abantu abalungi okuweebwa ekibonerezo ekyandiweereddwa abakoze ebibi, n'abantu ababi okuweebwa empeera eyandiweereddwa abakoze ebirungi. Ekyo nakyo ŋŋamba nti tekiriimu makulu. N'olwekyo nsemba okwesanyusa, kubanga omuntu talina kirungi kirala ku nsi, okuggyako okulya, n'okunywa, n'okusanyuka, kubanga eryo, lye ssanyu ly'alibeera nalyo mu kutegana kwe, ekiseera kyonna eky'obulamu bwe, Katonda bw'amuwa ku nsi. Bwe nafuba ennyo okufuna amagezi, n'okumanya emirimu gyonna egikolebwa ku nsi, nalaba ng'omuntu ayinza okumalako olunaku n'ekiro kyonna nga teyeebase, n'atasobola kutegeera ebyo byonna Katonda by'akola. Ne bw'ategana atya okunoonyereza, tayinza kubizuula. Abantu abagezi bayinza okugamba nti babimanyi, naye mu mazima tebabimanyi. Ebyo byonna nabirowooza ne mbyetegereza, ne ndaba nga Katonda ye afuga abantu abalungi n'abagezi era ne bye bakola, kyokka nga tebayinza kusinziira ku bibatuukako kumanya ng'abaagala, oba nga tabaagala. Ebituuka ku bantu bonna bye bimu awatali kusosolamu: bituuka ku beegendereza ne ku boonoonyi, ku balungi, ku abo abafaayo okwenenya ebibi byabwe, ne ku abo abatafaayo kubyenenya, ku bawaayo ebitambiro ne ku batawaayo bitambiro. Omuntu omulungi n'atali mulungi, oyo alayira n'oyo atya okulayira, bonna baba kye kimu. Ekibi ekiri mu byonna ebikolebwa ku nsi, kwe kuba nti ekintu kye kimu ekituuka ku bonna kyenkanyi. Era emitima gy'abantu bonna abalamu gijjudde ebibi n'eddalu, n'ekiddirira kufa. Naye buli akyali omulamu, aba n'essuubi, kubanga n'embwa ennamu esinga empologoma enfu. Weewaawo abalamu bamanyi nga balifa, naye bo abafu tebaliiko na kye bamanyi. Baba tebakyalinayo na mpeera, kubanga baba tebakyajjukirwa. Okwagala kwabwe, n'okukyawa kwabwe, n'okwegomba kwabwe, biba olwo tebikyaliwo, era baba tebakyaddayo kwetaba mu kintu na kimu ekikolebwa ku nsi. Genda olye emmere yo ng'osanyuka, onywe omwenge gwo ng'ojaguza, kubanga Katonda amaze okusiima by'okola. Ebyambalo byo bibenga biyonjo bulijjo, era tolemanga kwesiiga kazigo mu maaso n'onyirira. Omukazi gw'oyagala sanyukanga naye ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu makulu, Katonda bw'akuwadde ku nsi, kubanga ogwo gwe mugabo mu bulamu bwo, ne mu kutegana kwo kwoteganamu ku nsi. Buli mulimu gw'okola, gukole n'amaanyi go gonna, kubanga emagombe gy'ogenda, tewaliba kukola, wadde okulowooza, tewaliba kumanya, wadde amagezi. Era neetegereza ne ndaba nga ku nsi kuno, abawenyuka ennyo emisinde, si be bawangula empaka z'okudduka; ab'amaanyi, si be bawangula olutalo; n'abagezi si be bafuna ebibayimirizaawo; n'abategeevu, si be bafuna obugagga; era n'abalina obumanyirivu, si be bafuna emirimu egya waggulu. Naye omukisa n'ebiseera ebigwawo, bonna bibagwako bugwi, kubanga omuntu tamanya kiseera kye we kituukira. Ng'ebyennyanja bwe bikwatibwa mu katimba, era ng'ebinyonyi bwe bikwatibwa mu mutego, n'abantu bwe bakwatibwa bwe batyo mu kiseera ekibi nga tebakirindiridde. Era n'ekyokulabirako kino kye nafuna ku nsi, ekyogera ku magezi, nalaba nga kikulu. Waaliwo ekibuga ekitono, era n'abatuuze baamu nga si bangi, kabaka ow'amaanyi n'akirumba. N'akizingiza, n'ategekawo ebinaamenya ebisenge byakyo. Mu kibuga ekyo, mwalimu omusajja omwavu, naye nga mugezi. N'akozesa amagezi ge n'awonya ekibuga ekyo, kyokka ne wataba ajjukira musajja oyo omwavu. Kale ne ŋŋamba nti weewaawo amagezi gagasa okusinga amaanyi, naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, n'ebigambo bye tewaba abiwuliriza. Ebigambo abagezi bye boogera ekimpoowooze, biwulirizibwa okusinga eby'omufuzi w'abasiru aleekaana. Mu lutalo, amagezi gagasa okusinga ebyokulwanyisa, naye n'omuntu omu bw'ati bw'akola ensobi, azikiriza ebirungi bingi. Ebyakawoowo ebitegekeddwa omutabuzi waabyo, bwe bibaamu ensowera enfu, zibiwunyisa ekivundu. N'eky'obusiru ekitonotono, kimalawo amagezi amangi era n'ekitiibwa. Omugezi akola bituufu, naye omusiru akola bikyamu. Omusiru ne bw'aba atambula mu kkubo, teyeegendereza; era alaga abantu bw'ali omusiru. Oyo akufuga bw'akusunguwaliranga, tolekuliranga kifo kyo, kubanga okumenyeka kusonyiyisa n'ensobi ennene. Waliwo ekibi kye ndaba ku nsi, ye nsobi abafuzi gye bakola: abantu abasiru baweebwa ebifo eby'obuvunaanyizibwa obunene, abagagga ne baweebwa ebifo ebya wansi. Nalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, ng'abakungu be batambuza ebigere ng'abaddu. Asima obunnya ayinza okubugwamu, n'oyo awaguza ekisenge, ayinza okubojjebwa omusota. Asimula amayinja, gayinza okumusala, n'oyo ayasa enku ziyinza okumutuusaako akabi. Ekyuma bwe kiggwaako obwogi n'otokiwagala, kikuwaliriza okwongeramu amaanyi ng'okikozesa, naye amagezi gasobozesa omuntu okuwangula. Omusota bwe gumala okubojja, oyo aloga emisota ne gitabojja, aba takyagasa. Ebigambo omugezi by'ayogera, bimuweesa ekitiibwa, naye omusiru by'ayogera bimuzikiriza. Mu kusooka, ebigambo bye biba bya busiru, ku nkomerero ne biba bya ddalu ery'akabi. Omusiru ayogera nga tasalako. Tewali amanyi bigenda kubaawo, era tewali ayinza kututegeeza biribaawo nga tumaze okufa. Omusiru by'akola bimukooya nnyo, n'atasobola na kumanya kkubo mw'ayinza kuyita okuyingira mu kibuga. Ensi ziba zigisanze, omufuzi waayo bw'aba nga mwana muto, ate n'abakungu baayo nga bakeera bukeezi mu binyumu. Ensi eyo erina omukisa, omufuzi waayo bw'aba omukulembeze omulungi, era ng'abakungu baayo bakola ebinyumu mu kiseera kyabyo ekituufu, era nga babikola lwa kwewummuzaamu bafune amaanyi, sso si lwa ttamiiro. Omugayaavu olw'obutayagala kukola, ennyumba ye etonnya n'ebotokera ddala n'akasolya. Ebijjulo bikolebwa lwa kwesanyusa, n'omwenge gusanyusa obulamu, naye ekifuga byonna ze ssente. Toyogeranga bubi ku mufuzi newaakubadde mu kyama, era toyogeranga bubi ku mugagga, wadde ng'oli mu kisenge ky'osulamu, sikulwa ng'ebinyonyi ebibuuka n'ebiwaawaatiro mu bbanga, bitwala eddoboozi lyo, ne byasanguza ky'oyogedde. Beeranga mugabi, osuulenga emmere yo ku mazzi, nga wayise ekiseera, erikuddizibwa. Ku bintu byo gabirangako abantu bangi, nga musanvu oba munaana, kubanga tomanyi kabi kayinza kukutuukako ku nsi. Ebire bwe bikwata ne bifuuka amatondo g'amazzi, ng'olwo enkuba etonnya ku nsi. N'omuti bwe gugwa okwolekera ebukiikaddyo oba ebukiikakkono, mu kifo we gugwa, mwe gubeera. Alinda embuyaga n'embeera y'obudde bimale kutereera, talisiga, era talibaako ky'akungula. Nga bw'otoyinza kumanya kkubo mpewo ly'eyitamu, wadde okumanya amagumba bwe gakulira mu nda y'omukazi ali olubuto, era bw'otyo bw'otoyinza kumanya ebyo byonna Katonda by'akola. Siganga ensigo zo ku makya, era nga n'olweggulo toddirira, kubanga tomanyi oba z'osize ku makya, oba z'osize olweggulo ze ziriba n'omukisa, oba ng'ez'emirundi gyombi ziryenkana okuba ennungi. Ekitangaala kirungi, era omuntu okulaba enjuba asanyuka. Omuntu bw'awangaala emyaka emingi, asaanye agisanyukirengamu gyonna, wabula ajjukire nti ennaku ez'ekizikiza ky'alibeeramu ng'afudde, ziriba nnyingi. Byonna ebijja temuli makulu. Kale omuvubuka, sanyukiranga mu buvubuka bwo, weeyagalenga ng'okyali muvubuka. Kolanga byonna by'oyagala okukola, era weetuusengako ebyo byonna omutima gwo bye gwegomba. Kyokka tegeera nga Katonda alikusalira omusango olw'ebyo byonna. Kale weggyengako ebikweraliikiriza mu mwoyo, n'ebikuleetera obulumi mu mubiri, kubanga obuto n'obuvubuka buyita luwunguko. Kale jjukiranga Omutonzi wo ng'okyali muvubuka, ennaku enzibu nga tezinnatuuka, n'emyaka nga teginnatuuka mw'oligambira nti: “Sikyanyumirwa bulamu.” Ekiseera ekyo bwe kirimala okutuuka, olwo oliraba enjuba, n'ekitangaala, n'omwezi, n'emmunyeenye, nga bizimedde, ebire ne bikomawo enkuba ng'ekedde. Emikono gyo egibadde gikutaasa, girikankana. Amagulu go kati ag'amaanyi, galinafuwa. Amannyo olisigazaamu matono, nga tokyasobola na kugaaya mmere, n'amaaso go galiba tegakyasobola kulaba bulungi. Amatu go, galiba tegakyasobola kuwulira abaleekaanira mu nguudo, wadde okuwulira okusa kw'olubengo era n'amaloboozi g'abantu abayimba, wabula n'akanyonyi akayimba, kalikuzuukusa mu tulo. Olitandika okutya okulinnya obusozi, era onookaluubirirwanga okutambula. Ng'omutwe gwo gumaze okutukula envi, onoowuliranga nga n'amagulu gakuzitoowerera okusitula, owalula mawalule, era oliba tokyaliko kye weegomba kulya. Olwo omuntu ng'agenda mu kiwummulo kye eky'olubeerera, era n'amakubo nga galeeta abakungubazi! Omuguwa ogwa ffeeza guliba gukutuse, n'ettaala eya zaabu eriba egudde n'eyatika. Era n'omuguwa ogusibwako ensuwa esena mu luzzi guliba gukutuse, n'ensuwa ng'eyatiseyatise. Olwo omubiri gulidda mu ttaka mwe gwava, n'omwoyo ne gudda ewa Katonda eyagugaba. Omubuulizi agamba nti: “Tewali kirimu makulu, ddala byonna temuli makulu!” Kyokka omubuulizi nga bwe yali mugezi, yeeyongera okuyigirizanga abantu ebyo bye yali amanyi. Yawulirizanga nnyo nga boogera engero, n'azeetegereza, n'atereeza nnyingi. Yagezaako okuwandiika ebigambo ebinyuma, kyokka nga bituufu era nga bya mazima. Ebigambo by'abagezi, biri ng'omuggo omusongovu omusumba gw'agobesa ensolo ze. Ebigambo ebyo, omusumba abigaba ali omu, era bwe bikuŋŋaanyizibwa awamu, biba ng'emisumaali egikomereddwa obulungi. Mwana wange waliwo n'ekirala ky'osaanidde okulabukamu: okuwandiika ebitabo tekukoma, naye okusoma okusukkiridde kukooya omubiri. Ebigambo byange bikomye awo, era byonna obiwulidde. Ossangamu Katonda ekitiibwa, era ogonderanga ebiragiro bye. Ekyo buli muntu ky'ateekwa okukola, kubanga Katonda alisala omusango ogwa buli kintu kye tukola, omuli na buli ekikolebwa mu nkiso, ka kibe kirungi oba kibi. Oluyimba Ssennyimba, lwe luyimba lwa Solomooni. Emimwa gyo ginnywegere, kubanga okwagala kwo kusinga omwenge okuwooma. Omuzigo gwe weesiize guwunya kawoowo keereere. Erinnya lyo liri ng'omuzigo omusaanuuse. Abawala abatannafumbirwa kyebava bakwegomba. Ntwala gy'olaga tudduke tweggyewo. Ayi Ssaabasajja, nfuula owuwo, onnyingize mu kisenge kyo, tusanyukire wamu naawe, okwagala kwo tukutendereze okusinga omwenge. Abakwegomba baba batuufu. Abawala b'e Yerusaalemu, ngubye langi, naye ndi mulungi ng'eweema z'omu ddungu ly'e Kedari, ng'entimbe z'omu lubiri lwa Solomooni. Temunziimuula olw'okuguba langi, kubanga okwokebwa omusana kwe kundeetedde ekyo. Bannyinaze bansunguwalira ne banteeka ku gw'okulabirira ennimiro y'emizabbibu, kale olususu lwange ne sirulabirira. Ayi muganzi wange, mbuulira gy'olundira eggana lyo, gy'oliwummuliza mu ttuntu, nneme kukunoonyezanga eri banno gye balundira. Ayi Nnalulungi mu bakazi bonna, oba nga tomanyi gye nnundira, fuluma ogoberere ekisinde ky'eggana, olundire embuzi zo okumpi n'eweema z'abasumba. Ayi muganzi wange, osikiriza abasajja ng'embalaasi enkazi bwe zisikiriza ensajja ezisika ebigaali ebya kabaka wa Misiri. Amatama go ganyiridde n'emivumbo gy'enviiri ennange. Obulago bwo buwundiddwa n'ebyobuyonjo ebiteŋŋeenya. Tujja kukukolera emivumbo egya zaabu, egitimbiddwamu ne ffeeza. Kabaka bwe yali agalamidde ku katanda ke, omuzigo gwange ogw'omugavu ne guwunya akawoowo kaagwo. Muganzi wange ali ng'akawoowo ke ntadde wakati w'amabeere gange. Muganzi wange ali ng'ekisaaganda eky'ebimuli eby'omu ttale, ebimulisa mu nnimiro ez'emizabbibu mu Engedi. Laba, oli mulungi ggwe gwe njagala! Amaaso go malungi ng'enjiibwa! Ddala oli mulungi. Ayi muganzi wange, osanyusa! Ekitanda kyaffe kinaaba kya muddo. Emivule gye ginaabeera empagi z'enju yaffe, ng'emirabba gya nkanaga. Nze ndi kimuli kya mu ttale eky'omu kiwonvu ky'e Saroni, ndi ddanga ery'omu biwonvu. Muganzi wange, mu bakazi ali ng'eddanga mu maggwa. Ng'omucungwa mu miti egy'omu kibira, ne muganzi wange bw'ali mu balenzi. Nnyumirwa okutuula mu kisiikirize kyagwo, n'ebibala byagwo bimpoomera. Yannyingiza mu ddiiro lye omuliirwa obubaga. Okwagala ye bbendera gye yampuubira. Mumpe ndye ku mizabbibu emikalu, munkamulire ku micungwa nnyweko, kubanga okwagala kunzita kummalawo! Omukono gwe ogwa kkono guli wansi w'omutwe gwange; n'omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatidde. Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, mbalayiza empeewo n'enjaza ez'omu ttale: temugolokosanga wadde okuzuukusa okwagala, ng'ekiseera kyakwo ekituufu tekinnatuuka. Mpulira eddoboozi lya muganzi wange! Laba, ajja abuukirabuukira ku nsozi, ajja azinira ku busozi. Muganzi wange ali ng'empeewo, oba ng'ennangaazi ento. Laba, ayimiridde kumpi n'olukomera lwaffe, alingiza mu ddirisa, atunuulira mu kamooli. Muganzi wange aŋŋamba nti: “Jjangu ggwe omulungi gwe njagala, situka omwagalwa tugende wamu, kubanga ebiseera by'obutiti biibino byeggyeewo, n'enkuba eyise egenze; era n'ebimuli kati wonna byanyizza. Buno bwe budde ebinyonyi mwe biyimbira, era n'amayiba gawulirwa nga gayimbira mu nsi yaffe. Emitiini gitandise okubala. Empewo ejjudde akaloosa k'emizabbibu egimulisizza. Jjangu ggwe omulungi gwe njagala, situka tugende wamu. Oli ng'ejjiba eryekwese mu njatika z'omu jjinja, mu kifo ekyekusifu eky'omu lwazi olugulumivu. Leka ndabe amaaso go, leka mpulire eddoboozi lyo kubanga ddungi, n'amaaso go gasanyusa. Mutukwatire ebibe ebito era n'ebikulu, ebyonoona emizabbibu gyaffe egimulisizza. Muganzi wange, ye wange, nange nze wuwe. Aliisiza amagana ge mu malanga, okutuusa obudde lwe bunaakya, ne waggweerawo ddala enzikiza. Muganzi wange, kyusa odde ng'empeewo, oba ng'ennangaazi ento ku nsozi ez'e Beteli. Ekiro ku kitanda kyange naloota oyo gwe njagala, nga mmunoonya ne simuzuula. Namalirira nsituke ŋŋende ntambule ekibuga, mu nguudo zaakyo ne mu mpya, mmunoonyeeyo gwe njagala. Namunoonya n'ambulayo. Abakuumi abalawuna ekibuga, bandaba. Olwo ne mbuuza nti: “Mulabye ku mwagalwa wange?” Nali naakabayitako bwe nti, gwe njagala ne mmulaba. Ne mmunyweza ne simuta, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, mu kisenge ky'oyo anzaala. Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, mbalayiza empeewo n'enjaza ez'omu ttale: temugolokosanga, wadde okuzuukusa okwagala, ng'ekiseera kyakwo ekituufu tekinnatuuka. Oyo ani ayambuka okuva mu ddungu, ng'ali ng'empagi ey'omukka, ng'asiigiddwa ebyakawoowo ebya mirra n'omugavu, n'ebyakawoowo byonna ebyo omusuubuzi by'atunda? Solomooni ye avaayo ng'asituddwa ku ntebe ye, eyeebunguluddwa abakuumi be nkaaga ab'omu batabaazi ba Yisirayeli abasingayo obuzira. Bonna bakwasi ba bitala abamanyirivu mu kulwana. Buli omu yeesibye ekitala nga mwetegefu okulwana, bwe balumbibwa mu kiro. Kabaka Solomooni yeekolera entebe ye ey'emiti egy'e Lebanooni. Ebikondo byayo yakola bya ffeeza, ekyesigamibwako kya zaabu, ekituulibwako kya lugoye lwa kakobe olulukiddwa n'obukugu abakazi b'e Yerusaalemu. Abawala b'omu Siyooni, mujje mulabe Kabaka Solomooni. Alina engule ku mutwe nnyina gy'amutikidde ku lunaku lw'embaga ye, olunaku lw'afuniddeko essanyu lye. Ng'oli mulungi, muganzi wange! Ddala oli mulungi! Mu katimba, ke weebisseeko, amaaso go gali ng'enjiibwa. Enviiri zo zinyereketa ng'eggana ly'embuzi nga likkirira olusozi Gileyaadi! Amannyo go meeru: gatukula ng'eggana ly'endiga ezaakasalibwako ebyoya, ezambuka nga ziva okunaazibwa. Tezitambula kinneemu: buli emu eba ne ginnaayo. Emimwa gyo giri ng'ewuzi emmyufu, n'ebigambo byo biwoomerevu. Amatama go mu katimba k'ogabisseeko, galabika bulungi ng'ekkomamawanga erisaliddwamu awabiri. Obulago bwo buli g'omunaala gwa Dawudi, ogwazimbibwa baterekemu ebyokulwanyisa. Nabwo butimbiddwamu akakuufu akali ng'engabo olukumi ez'abatabaazi abazira, ezitimbiddwa mu munaala guli. Amabeere go gombi, gali ng'empeewo ento ebbiri ennongo eziriira mu malanga. Nja kugenda mbeere ku lusozi okuli akawoowo akayitibwa mirra, ne ku kasozi okuli akawoowo k'obubaane, okutuusa empewo z'oku makya lwe zinaafuuwa, n'enzikiza lw'eneggwaawo. Ng'oli mulungi wenna, muganzi wange! Nga toliiko kamogo! Mugole wange vvaayo ku nsozi z'e Lebanooni, ojje tugende ffembi. Wanukayo ku ntikko z'olusozi Amaani, ku Lusozi Seneri, ne ku Lusozi Herumooni, awabeera empologoma n'engo. Eriiso ly'ontunuuliza, ayi muganzi wange era mugole wange, n'omukuufu gwo mu bulago, bibbye omutima gwange! Okwagala kwo nga kulungi, ayi muganzi wange era mugole wange! Okwagala kwo kusinga nnyo omwenge. Ebyobuwoowo byo bye biwunya obulungi okusinga ebyobuwoowo ebirala byonna. Emimwa gyo, ayi muganzi wange, giwoomerera ng'omubisi gw'enjuki. Olulimi lwo luliko amata n'omubisi gw'enjuki. Ebyambalo byo birina akawoowo konna aka Lebanooni! Muganzi wange era mugole wange, ye nnimiro eriko enkomera; ye nnimiro eyeetooloddwa ekisenge, era lwe luzzi olusenebwako nze nzekka. Wagisimbamu mikomamawanga egy'ebibala ebirungi ennyo. Erimu amazzi n'emiti egy'omugavu n'ebyobuwoowo ebiyitibwa saffurooni, kulamu, ne cinnammoni, n'obubaane obwa buli ngeri. Mirra ne alowe bisangibwa omwo, n'ebyobuwoowo byonna ebisinga okuwunya obulungi. Ensulo z'amazzi amalungi, n'emigga egikulukuta okuva mu Lebanooni, bye bifukirira ennimiro eyo. Zuukuka ggwe embuyaga ey'ebukiikakkono, naawe ggwe embuyaga ey'ebukiikaddyo, mukuntire mu nnimiro yange, akawoowo k'ebigirimu kasaasaanire wonna. Muganzi wange ajje mu nnimiro ye, alye ku bibala byayo ebirungi ennyo. Ayi muganzi wange era mugole wange, nzize mu nnimiro yange. Nnoze mirra n'ebyakawoowo byange, ndidde ku mubisi gw'enjuki, ne ku bisasala byazo. Nnywedde omwenge gwange, n'amata gange. Mulye, mmwe abaagalana, munywe; munywe mukkute omukwano! Nali neebase, sso nga ntunula, ne mpulira muganzi wange ng'akonkona ku luggi, ng'agamba nti: “Nziguliraawo, muganzi wange, kabiite, omulungi wange, ataliiko kamogo! Omutwe gwange gutobye omusulo, enviiri zange zijjudde ssuulwe.” Nga nneeyambudde dda nze! Nziremu ate nnyambale? Nanaabye dda ebigere! Nziremu ate mbiddugaze? Muganzi wange n'ayisa omukono mu kituli mu luggi, nzenna ne mbugaana essanyu, kubanga ali awo. Ne ngolokoka okumuggulirawo, ebibatu byange n'engalo zange nga bitobye omuzigo ogw'akawoowo oguyitibwa mirra, ne gukulukutira ku kisiba oluggi. Ne nzigulirawo muganzi wange, kyokka nga yabuzeewo dda! Ne njagala mpulire bw'ayogera, ne mmunoonya, nga sikyamulaba! Ne mmuyita, nga tanziramu. Abakuumi ne bansanga nga balawuna ekibuga, ne bankuba, ne banteekako ebiwundu. Abakuumi b'ekibuga abo, ne bannyagako omunagiro gwange! Mbalayiza mmwe abawala b'omu Yerusaalemu, bwe mulaba muganzi wange, mumugamba nti okwagala nze kunzita, kummalawo! Ggwe nnalulungi, mu bakazi bonna, kiki ekyawula muganzi wo ku bantu abalala? Kiki ky'alina ekyenjawulo olyoke otulayize bw'otyo? Muganzi wange mulungi era wa maanyi. Ali omu yekka mu bantu omutwalo! Omutwe gwe guli nga zaabu omulungi ennyo nnyini. Enviiri ze za mayengo, nzirugavu nga nnamuŋŋoona. Amaaso ge gali ng'enjiibwa eziri ku mabbali g'obugga obukulukuta amazzi, nga ziri ng'ezinaaziddwa mu mata, ziri awo ziwummudde. Amatama ge gali ng'ennimiro omuli ebimera ebyobuwoowo, n'ebirungo by'enva ebyakaloosa. Emimwa gye giri ng'amalanga agatonnyolokokako eky'akawoowo ekiyitibwa mirra. Emikono gye giri ng'empeta eza zaabu eziwundiddwamu amayinja ga berulo. Omubiri gwe guli ng'ogwakolebwa mu ssanga eriwundiddwamu amayinja ga safiro. Amagulu ge gali ng'empagi ez'amayinja amayooyoote, ezisimbiddwa mu binnya ebya zaabu omulungi ennyo. Waakitiibwa ng'ensozi z'e Lebanooni, okuli emivule emiwagguufu. Emboozi ye mpoomerevu, na buli ekimuliko kinsanyusa. Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, bw'atyo bw'ali muganzi wange, ye wuuyo mukwano gwange. Ggwe nnalulungi mu bakazi bonna, muganzi wo alaze wa? Kkubo ki ly'akutte, tumunoonyeze wamu naawe? Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, omuli ebimera ebyakawoowo, okulundira eyo eggana lye n'okunogayo ku malanga. Muganzi wange, ye wange, nange nze wuwe. Alundira eggana lye mu malanga. Oli mulungi, ayi muganzi wange, ng'Ekibuga Tiruza; onyirira nga Yerusaalemu. Otiisa ng'eggye eritaze okulwana! Tontunuulira, kubanga amaaso go gampangudde. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, erikkirira olusozi Gileyaadi. Amannyo go meeru. Gatukula ng'eggana ly'endiga enkazi ezambuka nga ziva okunaazibwa. Tezitambula kinneemu: buli emu eba ne ginnaayo. Amatama go mu katimba k'ogabisseeko, galabika bulungi ng'ekkomamawanga erisaliddwamu awabiri. Ka wabeewo abakyala abeekitiibwa nkaaga, n'abazaana kinaana, era n'abawala abaweereza butabala; naye muganzi wange ataliiko kamogo, ali omu. Ye muwala yekka nnyina gwe yazaala. Mu baana be, ye gw'ayagala ennyo. Abawala abamutunulako bonna bamutenda omukisa. Abakyala abeekitiibwa wamu n'abazaana, bonna bamutendereza. Ono ye ani asala nga mmambya, omulungi ng'omwezi, atemagana ng'enjuba evaayo, atiisa ng'eggye eritaze okulwana? Naserengeta mu nnimiro ey'ebinyeebwa eby'oku muti, ndabe ebimera ebikulira mu kiwonvu, ndabe n'emizabbibu oba nga gimulisizza, n'emikomamawanga oba nga gyanyizza. Okugenda okwejjuukiriza nga mu birowoozo byange, ntudde mu bigaali okumpi ne kabiite wange! Komawo, komawo omuwala w'e Sulamu! Komawo, komawo tukulabe! Munsimbira ki amaaso, ng'omugole ayita mu nnyiriri z'abatunuulizi? Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ayi muwala w'omulangira! Ennyingo z'ebisambi byo, ziri ng'amayinja ag'omuwendo agayooyooteddwa obulungi! Ekkundi lyo, liri ng'ekikopo ekyekulungirivu, kye bataddemu omwenge ogutabuddwamu ebiguwoomesa. Olubuto lwo luli ng'ekiganda ky'eŋŋaano ekyetooloddwa amalanga. Amabeere go gombi gali ng'empeewo ebbiri ennongo. Ensingo yo eri ng'omunaala ogw'essanga! Amaaso go gali ng'ebidiba by'e Hesubooni ebiri okumpi n'omulyango gw'e Batirabbimu. Ennyindo yo eri ng'omunaala gw'e Lebanooni, ogutunudde e Damasiko. Omutwe gwo musitufu ng'Olusozi Kalumeeli. Enviiri zo ziri ng'olugoye olwekitiibwa. Obulungi bwo busikiriza ne kabaka. Ng'oli mulungi mubalagavu, ayi muganzi wange! Ng'okwagala kwo kunsanyusa! Wakula weegolodde ng'olukindu, amabeere go bye birimba eby'empirivuma zaakwo. Nagamba nti: “Nja kulinnya olukindu nnogeyo ebibala byalwo.” Amabeere go gandabikira ng'ebirimba by'emizabbibu, n'akawoowo k'omukka gw'ossa, kali ng'ak'emicungwa. Ebigambo by'oyogera biri ng'omwenge ogusingira ddala okuwooma. Ogwo gwe mwenge ogusaanidde okunywebwa muganzi wange, emimwa gye n'amannyo ge biryoke byenuguune! Nze ndi wa muganzi wange, naye yeegomba nze. Jjangu muganzi wange tugende mu nnimiro; tugende tubeereko mu kyalo. Tukeere mu nnimiro y'emizabbibu ku makya, tulabe oba nga gimulisizza, oba ng'ekimuli kyagyo kyanjuluzza, era oba ng'emikomamawanga gyanjuluzza. Eyo gye nnaakulagira okwagala kwange. Onoowunya ku kawoowo k'amandalake. Ebibala byonna ebirungi ennyo binaabeera awo kumpi n'oluggi lwaffe. Nkuterekedde, ayi muganzi wange, ebisanyusa ebiggya era n'ebikadde. Ha, singa nno wali mwannyinaze eyayonka ku mabeere ga mmange! Twandisisinkanye ebweru ne nkugwa mu kifuba, ne watabaawo ansunga. Nandikututte ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, n'onjigiririza eyo okwagala. Nandikuwadde ku mwenge omuwoomu n'onywako, ne ku mubisi omusogole mu makomamawanga. Omukono gwo ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange, omukono gwo ogwa ddyo gumpambaatidde. Mbalayiza mmwe abawala b'e Yerusaalemu: temugolokosanga wadde okuzuukusa okwagala, ng'ekiseera kyakwo ekituufu tekinnatuuka. Ono ani ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Nazuukusa okwagala kwo wansi w'omucungwa, mu kifo mwe wazaalirwa, nnyoko mwe yalumirwa ng'akuzaala. Siba omutima gwo oyagale nze nzekka; emikono gyo gireme kuwambaatira mulala wabula nze nzekka, kubanga okwagala kwenkanya okufa amaanyi. Obuggya bukambwe, okwenkana amagombe. Okwagala kukoleera ne kwaka ng'omuliro, ogulina ennimi ezeememula! Omujjuzo gw'amazzi wadde engezi, tebiyinza kuzikiza kwagala. Oyo awaayo obugagga bwonna bw'aba nabwo mu nnyumba agule okwagala, afuna kunyoomebwa kwokka. Mwannyinaffe muto tannamera bbeere! Tunaamukolera ki bwe wajja amwogereza? Mwannyinaffe oyo bw'anaaba ekisenge, tunaamuzimbako omunaala ogwa ffeeza; bw'anaaba oluggi, tunaamusiba n'emikiikiro egy'omuvule. Ndi kisenge, amabeere gange gye minaala gyakwo. Bwe mba ne muganzi wange mmatira, mba mirembe. Solomooni yalina ennimiro ey'emizabbibu e Baali Hammoni, abalimi ne bagipangisa, buli omu ng'asasula sekeli lukumi eza ffeeza. Solomooni k'afunenga sekeli ze olukumi eza ffeeza, n'abapangisa bafunengamu ebikumi ebibiri, naye ennimiro eyange, nze njeerabiririra nzekka! Ggwe abeera eyo mu nnimiro, bannange balindiridde okuwulira ku ddoboozi lyo. Kale yogera ndiwulireko. Jjangu gye ndi, ayi muganzi wange, ng'oyanguwa ng'empeewo oba ng'ennangaazi ento, ku nsozi awakula ebyakawoowo. Buno bwe bubaka obufa ku Ggwanga lya Buyudaaya n'Ekibuga Yerusaalemu, Katonda bwe yawa Yisaaya mutabani wa Amozi, mu kiseera ky'obufuzi bwa bassekabaka ba Buyudaaya bano: Wuzziya, Yotamu, Ahazi, ne Heezeekiya. 26:1-23; 27:1-9; 28:1-27; 29:1–32:33 Mukama yagamba nti: “Ggwe eggulu wulira, naawe ensi tega okutu, muwulirize kye ŋŋamba! Abaana be nayola ne mbakuza, banjeemedde. Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekifo mukama waayo w'agiriisiza, naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli, okumanya kwabwe tekutuuka awo. Abantu bange tebalowooza.” Zikusanze ggwe Eggwanga eryonoonyi, abantu abeetuumyeko ebibi, bazzukulu b'abakozi b'ebibi, abaana aboonoonefu. Muvudde ku Mukama. Munyoomodde Omutuukirivu wa Yisirayeli, ne mumukuba amabega. Lwaki mwongera okuba abajeemu? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Yisirayeli, omutwe gwo gwonna gujjudde biwundu, omutima gwo gunafuye. Okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, tolinaawo katundu kalamu. Ojjudde binuubule, bikalabule, na biwundu. Ebiwundu byo si binaaze, wadde okusibibwako akawero. Tewali ddagala libiteekeddwako. Ensi yammwe yonna efuuse matongo, n'ebibuga byammwe byokeddwa omuliro ne bisirikka. Abagwira balumbye ensi yammwe ne bagiwamba, era ne bazikiriza ebirimu, mmwe nga mulaba. Siyooni kisigadde ng'akasiisira akali mu nnimiro y'emizabbibu, ng'ekiyumba ekikuumirwamu ennimiro y'emyungu, oba ng'ekibuga ekizingiziddwa. Singa Mukama Nnannyinimagye teyatulekerawo ku bantu abatono ennyo b'atalizza, twandibadde ng'ab'e Sodoma, twandifuuse ng'ab'e Gomora. Muwulire Mukama ky'agamba, mmwe abakulembeze ba Yerusaalemu, abali ng'ab'e Sodoma; mutege amatu mmwe abantu abali ng'ab'e Gomora, muwulire ebyo Katonda waffe by'abayigiriza. Mukama agamba nti: “Ebitambiro byammwe ebingi, bingasa ki? Neetamiddwa ebitambiro ebyokebwa eby'endiga ennume, n'amasavu g'ensolo zammwe ezassava. Saagala musaayi gwa nte, wadde ogw'endiga ento, n'ogw'embuzi ennume. Ani yabalagira eky'okujjanga obuzzi okulabika mu maaso gange, nnyini okulinnyirira empya zange? Temwongera kuleeta bitone bitalina makulu. Neetamiddwa obubaane bwe munjotereza, n'embaga zammwe ez'Okuboneka kw'Omwezi, ne Sabbaato zammwe, era n'okuyita enkuŋŋaana. Sisobola kugumiikiriza nkuŋŋaana za ddiini, wamu n'ebibi. Nkyayira ddala embaga zammwe ez'Okuboneka kw'Omwezi, n'ez'ennaku zammwe enkulu. Mbyetamiddwa, nkooye okubigumiikiriza. “N'olwekyo bwe munaagololanga emikono gyammwe nga muliko kye munsaba, sijjanga kubatunuulira, era ne bwe munaasabanga okwenkana wa, sijjanga kuwuliriza, kubanga engalo zammwe zisaabaanye omusaayi. Munaabe, mutukule. Mukomye obutali butuukirivu bwonna bwe ndaba mukola. Mulekere awo okukola ebibi, muyige okukolanga ebirungi. Mufube okukolanga ebituufu, mugololenga abanyigiriza abalala, mulwanirirenga bamulekwa, muwolerezenga bannamwandu.” Mukama agamba nti: “Kale mujje tuteese, tukkaanye. Ebibi byammwe ne bwe binaaba ebimyufu ng'omusaayi, nja kubanaaza mutukule ng'omuzira. Ne bwe binaaba bya langi mmyufu enkwafu, binaayamuka ne biba byeru ng'ennyange. Bwe munaabanga abagonvu era abawulize, munaalyanga ebirungi ensi yammwe by'ebabaliza. Naye bwe muneeremanga ne mujeema, munattibwanga. Nze Mukama, Nze njogedde.” Ekibuga ekyali ekyesigwa, nga kifuuse ng'omukazi omwenzi! Edda ekyali kijjuddemu abantu abagoberera obwenkanya era abakola ebituufu, kaakati kirimu batemu. Yerusaalemu, wali wa muwendo nga ffeeza, naye kati toliiko ky'ogasa; oli ng'omwenge ogutabuddwamu amazzi. Abakulembeze bo bajeemu, era mikwano gya babbi. Bafa ku nguzi na ku birabo ebibaweebwa. Tebafaayo kulwanirira bamulekwa, wadde okuwuliriza bannamwandu bwe baleeta ensonga zaabwe. Kale Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye, Omuzira wa Yisirayeli, agamba nti: “Nja kuwoolera eggwanga ku mmwe abalabe bange, muleme kuddayo kuntawaanya. Nja kubakolako, mbasengejje ng'ekyuma bwe kisengejjebwa, mbamalemu obukyafu bwammwe bwonna. Nja kubawa abakulembeze n'abawi b'amagezi abalungi, nga bali be mwalina edda. Olwo Yerusaalemu kiriddamu okuyitibwa ekitukuvu era ekyesigwa.” Mukama omwenkanya era omutuukirivu, ajja kununula Yerusaalemu, n'abaamu bonna abakyuka ne beenenya. Wabula abajeemu n'abakola ebibi, balizikiririzibwa wamu, era n'abo abeggya ku Mukama, balimalibwawo. Ensonyi ziribakwata mmwe olw'emiti gye mwasinzanga, n'olw'ennimiro ze mwawongera balubaale. Muliba ng'omuti oguwotoka amakoola, era ng'ennimiro gye batafukirira. Ab'amaanyi baliba ng'essubi ekkalu, ebibi bye bakola bibe ng'ensasi z'omuliro, baggyiire wamu nabyo, era tewaliba ayinza kuziyiza kuzikirizibwa kwabwe. Buno bwe bubaka Katonda bwe yawa Yisaaya mutabani wa Amozi, obufa ku Ggwanga lya Bayudaaya, ne ku Kibuga Yerusaalemu. Mu biseera eby'oluvannyuma, olusozi okuli Essinzizo lulifuulibwa olusinga zonna obugulumivu, ne lusoolooba ku busozi bwonna, era amawanga galikuluumulukukira ku lwo. Abantu bangi balijja ne bagamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu Ssinzizo lya Katonda wa Yakobo, atuyigirize empisa z'ayagala tubeere nazo; naffe tunaayisanga nga bw'ayagala, kubanga Mukama ayigiriza ng'asinziira ku Lusozi Siyooni, era amateeka ge agaweera mu Yerusaalemu.” Aliramula amawanga, abantu bangi n'abatabaganya. Ebibadde ebyokulwanyisa byabwe balibiweesa, ne babifuula ebintu ebirala: ebibadde ebitala byabwe, balibiweesa, ne babifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe ne bagafuula ebiwabyo. Tewaliba ggwanga likwata byakulwanyisa kulumba ggwanga linnaalyo, era tewaliba nate kutendekebwa mu bya ntalo. Kale, mmwe bazzukulu ba Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama. Ayi Katonda, oyabulidde abantu bo, bazzukulu ba Yakobo, kubanga ensi yaabwe yonna bagijjuzizza eby'obulogo ebiva ebuvanjuba, era bafuuse balaguzi ng'Abafilistiya, era bassa kimu n'abagwira. Ensi yaabwe ejjudde ffeeza ne zaabu, era obugagga bwabwe tebuliiko kkomo. Ensi yaabwe ejjudde embalaasi, n'amagaali gaabwe nago tegaliiko kkomo. Ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi bya balubaale, abantu basinza ebyo, bo bennyini bye bakoze n'emikono gyabwe, omuntu owaabulijjo n'avuunama, n'omukungu ne yeetoowaza. N'olwekyo, Ayi Mukama tobasonyiwa n'akatono. Mudduke muyingire mu mpuku z'omu njazi, mwekweke mu nfuufu, nga mudduka Mukama ow'entiisa, era oweekitiibwa n'obuyinza. Olunaku lujja kutuuka, okwekuluntaza kw'abantu lwe kulimalibwawo, n'okwegulumiza kwabwe lwe kulizikirizibwa. Okuva olwo, Mukama yekka ye aligulumizibwa, kubanga walibaawo olunaku, Mukama Nnannyinimagye kw'alitoowaliza bonna abeekuza ne beewanika, na buli eyeekulumbaza ne yeegulumiza. Mukama alizikiriza emiti gyonna emiwanvu egy'omu Lebanooni, n'emivule gyonna egy'e Basani. Aliseeteeza ensozi zonna empanvu, n'obusozi bwonna obugulumivu, buli munaala omuwanvu, na buli kisenge eky'ekigo ekigumu. Alibbika mu nnyanja emmeeri zonna ez'e Tarusiisi, n'azikiriza byonna ebyakolebwa, ebisanyusa okulaba. Okugulumizibwa kw'abantu kulitoowazibwa, n'okwekulumbaza kwabwe kwonna kulimenyebwa. Ku lunaku olwo, Mukama yekka ye aligulumizibwa. N'ebifaananyi byonna bye basinza, biriggweerawo ddala. Abantu baliyingira mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bunnya obusime mu ttaka, okwekweka Mukama ow'entiisa era n'ekitiibwa n'obuyinza, bw'alyesowolayo okukuba ensi entiisa. Olunaku olwo bwe lulituuka, abantu balisuula eri ebifaananyi bye basinza, ebikole mu zaabu ne mu ffeeza, era balibirekera mmese na buwundo, ne bayingira mu mpuku ez'omu njazi, ne mu mpompogoma z'amayinja agaayatika, okwekweka Mukama ow'entiisa era oweekitiibwa n'obuyinza, bw'alyesowolayo okukuba ensi entiisa. Mulemenga kwesiga bantu. Okuggyako okussiza mu nnyindo, kiki eky'omuwendo kye balina? Abange, mulabe Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye, anaatera okuggya ku Yerusaalemu ne ku Buyudaaya, buli kintu kye mwetaaga okweyimirizaawo. Agenda okubaggyako emmere n'amazzi, abaggyeko abantu ab'amaanyi n'abazira, abalamuzi n'abalanzi, abalaguzi n'abakulembeze, abakulira abantu ataano ataano mu magye, n'abantu abakulu abeekitiibwa, n'abawi b'amagezi, n'abakola emirimu egyekikugu, n'abagezigezi abawanuuza ebinaabaawo. Mukama alireka abantu be okukulemberwa abalenzi abato, abafuga nga bakyukakyuka mu nkola yaabwe awatali nsonga. Abantu tebalissaŋŋanamu kitiibwa. Abaana abato balijooga abantu abakulu, n'abatwalibwa balinyooma bakama baabwe. Ekiseera kirituuka abazaalibwa mu nnyumba emu, ne bagamba omu ku baganda baabwe nti: “Waakiri ggwe nga bw'olina k'oyambala, ggwe oba otukulira, olabirire bino ebifaafaaganye.” Ku olwo, alyerwanako ng'agamba nti: “Sijja kubaako kye nnyamba, kubanga ewange nange sirinaayo mmere, wadde olugoye olw'okwambala. Temunnonda kubakulira.” Weewaawo Yerusaalemu zikisanze, n'Obuyudaaya buzikiridde! Kubanga byonna abantu bye bakola ne bye boogera, biwakanya Mukama, binyooma ekitiibwa kye. Entunula yaabwe yennyini, ebalumiriza omusango. Ebibi byabwe babikola kyere ng'ab'e Sodoma, tebabikisa. Zibasanze, kubanga beereetedde bokka akabi. Mubuulire abayisa obulungi nti baliba bulungi, kubanga baliganyulwa ebiva mu birungi bye bakoze. Naye ababi zibasanze, banaabeeranga bubi, kubanga bye bakoze, nabo bye binaabakolwangako. Abantu bange, abanyigirizibwa baana bato, era bakazi be babafuga! Ayi mmwe abantu bange, abakulembeze bammwe babakyamya, babaggya ku bituufu, ne babakozesa ebikyamu. Mukama asituse n'ajja okulumiriza abantu be, ayimiridde okubasalira omusango. Mukama anaasalira abakulembeze n'abakungu b'abantu be omusango. Abalumiriza bw'ati: “Munyaguludde ennimiro z'emizabbibu, era amayumba gammwe gajjudde ebintu bye munyaze ku baavu. Mubadde mutya, mmwe ababetenta abantu bange, ne munyigira abaavu ku lwala ng'enkukunyi? Nze Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye, Nze mbuuza.” Mukama era n'agamba nti: “Abakazi b'omu Yerusaalemu balina amalala. Batambula balalambazizza ensingo, era nga batunuza bukaba. Batambuza ssimbo, nga bagenda batta ku bigere, nga bakoona engatto ziwulirwe. N'olwekyo, Nze Mukama, emitwe gyabwe ndigifuula gya biwalaata, ne gisigala nga tekuli nviiri, baswale.” Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama aliggya ku bakazi b'e Yerusaalemu eby'obuyonjo byonna ebibaleetera okwekulumbaza: bye bambala ku bukongovvule, bye batikkira ku mitwe gyabwe, ne bye beenaanika mu bulago, ne ku mikono gyabwe, n'ebitambaala bye beebikkirira ku maaso, ne bye beesiba ku mitwe, n'obukomo obw'emikisa bwe bambala ku mikono, n'embira ze beesiba mu biwato; n'empeta ze beenaanika ku ngalo, ne ze beetunga mu nnyindo, n'engoye ez'ebbeeyi, n'eminagiro, n'essuuka ze basuulira, n'ensawo ez'omu ngalo; endabirwamu, n'engoye ez'obutimba, n'ezo enjeru ennungi, n'ebiremba eby'omu mutwe, n'engoye ez'okwebikkirira. Mu kifo ky'ebyakawoowo, baliwunya kivundu. Mu kifo ky'olwebagyo, balyesibya miguwa. Mu kifo ky'enviiri ensunsule obulungi, baliba na biwalaata. Ne mu kifo ky'engoye ennungi, balyambala bikutiya. Obubalagavu bwabwe bulifuuka nsonyi. Bo abasajja b'omu Yerusaalemu, wadde abo abazira, balittirwa mu lutalo. Enzigi za Yerusaalemu zirikungubaga, ne zitema emiranga. Yerusaalemu kyennyini kiriba ng'omukazi akubiddwa ennaku, atuula ku ttaka ng'asobeddwa. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu, nga bagamba nti: “Ffe tuneenoonyezanga ebyokulya n'ebyokwambala, naye kkiriza tuyitibwenga bakyala bo, otuwonye okuswala olw'obutafumbirwa.” Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ebimera byonna n'emiti, Mukama bye yameza, biriba birungi era byakitiibwa, n'ebibala ebiribala mu nsi biriba birungi era biriwoomera nnyo abo abaliba bawonyeewo mu Yisirayeli. Buli aliba asigaddewo mu Siyooni, Katonda gw'aliba alonze okusigala nga mulamu mu Yerusaalemu, aliyitibwa mutukuvu. Mukama bw'aliba amaze okukozesa obuyinza bwe okusalira omusango abantu b'omu Yerusaalemu n'okubanaazaako ebibi byabwe, n'okuggya ku Yerusaalemu obutemu obwakikolerwamu. Ku Lusozi Siyooni, ne ku bonna abakuŋŋaaniddeko, Mukama alireeta ekire n'omukka emisana, n'okutangalijja kw'omuliro ogubuubuuka ekiro. Ekitiibwa kya Katonda kiribikka ekibuga kyonna, ne kikikuuma. Ekitiibwa ekyo kirisiikiriza ekibuga okukiwonya ebbugumu emisana, ne kikifuula ekifo ekyekusifu, omwekwekebwa okuwona enkuba ne kibuyaga. Kaakano ka nnyimbire muganzi wange oluyimba olufa ku nnimiro ye ey'emizabbibu. Muganzi wange yalina ennimiro ey'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo. Yagikabala bulungi n'alondalondamu amayinja agaalimu, n'agisimbamu emizabbibu emirungi ddala. N'azimba wakati mu yo omunaala ogw'okukuumiramu, n'asimamu essogolero. N'asuubira ng'eneemubalira emizabbibu emirungi, kyokka n'emubalira gikaawa ng'egy'omu nsiko. Muganzi wange oyo agamba nti: “Kale mmwe abatuuze b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya bwonna, mbasaba musale omusango wakati wange n'ennimiro yange ey'emizabbibu. Kiki ekirala kye nandikoledde ennimiro yange eyo ey'emizabbibu kye saagikolera? Kale lwaki bwe nasuubira ebale emizabbibu emirungi, ate yabala gikaawa ng'egy'omu nsiko? “Kaakano ka mbategeeze kye nnaakolera ennimiro yange eyo: nja kuggyawo olukomera lwayo mmenyewo ekigo ekigikuuma ebisolo biriiremu era bigirinnyirire. Era nja kugizisa: emizabbibu tegiisalirwenga, n'omuddo tebaagulimenga. Erimeramu emyeramannyo n'amaggwa, era ndiziyiza n'ebire okugitonnyesangako enkuba.” Eggwanga lya Yisirayeli ye nnimiro y'emizabbibu eya Mukama Nnannyinimagye, n'abantu b'omu Buyudaaya, kye kirime kye yalima ekimusanyusa. Yabasuubiramu okukola eby'obwenkanya, naye bo baakola bya butemu. Yabasuubiramu okukola ebituufu naye baakola bya kukaabya bantu. Zibasanze mmwe abagula ennyumba ne muzongera ku ezo ze mulina, era abongera ennimiro ku ezo ze mubadde nazo, okutuusa lwe munaamalawo buli kafo, ensi ne mugibeeramu mwekka. Mpulidde Mukama Nnannyinimagye ng'agamba nti: “Ennyumba zino zonna ennyingi, zirifuuka bifulukwa. Ezo ennene era ennungi, tewaliba azibeeramu. Ennimiro y'emizabbibu eya yiika ekkumi, eneevangamu ekibbo kimu. N'ekisero ky'ensigo, kinaavangamu akabbo kamu.” Zibasanze abo abazuukuka ku makya ne bakeera okunoonya ebyokunywa ebitamiiza. Banywa omwenge okuzibya obudde, ne gubalalusa. Embaga zaabwe zibaako ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere n'omwenge. Naye tebalowooza ku ebyo Mukama by'akola era tebabifaako. Kale abantu bange kyebavudde batwalibwa mu buwaŋŋanguse olw'obutabaako kye bamanyi. Abakungu baabwe balifa enjala, n'abantu baabwe bonna ne battibwa ennyonta. Amagombe kye galiva gabeegomba, ne gaasamya akamwa okubamira, abakungu baabwe n'abantu baabwe abangi ababadde bakuba embeekuulo nga basanyuka mu bo, bonna ne bakkirira omwo. Buli muntu aliswazibwa, n'abeekulumbaza balitoowazibwa. Naye Mukama Nnannyinimagye agulumizibwa mu kusalira abantu omusango, era alaga obutuukirivu bwe, ng'akola ebituufu. Endiga ento ziriira mu bifo ebyazika, nga bwe ziriira mu malundiro; era ebifo ebyo eby'abagevvu, abagwira balibyefunira. Zibasanze abo abalemwa okuva mu bibi byabwe, ne bakulula ebibi nga bwe bakulula ekigaali kye basibyemu emiguwa. Bagamba nti: “Mukama ayanguyeeko by'akola tubirabe, Omutuukirivu wa Yisirayeli asambyeko, by'ateesa okutuukiriza tubimanye.” Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi n'ekirungi ne bakiyita ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'ekitangaala, n'ekitangaala mu kifo ky'ekizikiza, era abateeka ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera, n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa. Zibasanze abo abeemanyi bwe bali abagezi, abeetenda obutegeevu. Zibasanze abo ab'amaanyi mu kunywa omwenge, abazira mu kutabula ebitamiiza. Baggya omusango ku babi olw'enguzi, omutuufu ne batamuwa kimusaanidde. Kale ng'omuliro bwe gwokya ensambu n'essubi ekkalu, bwe bityo ne bye beesigamyeko bwe birivunda, ne bye bakola bwe birifuumuuka ng'enfuufu, kubanga baagaana amateeka ga Mukama Nnannyinimagye; banyooma ekigambo ky'Omutuukirivu wa Yisirayeli. N'olwekyo Mukama asunguwalidde abantu be, era agolodde omukono gwe okubabonereza. Ensozi zijja kukankana, n'emirambo gy'abo abattiddwa gisigale ng'ebisasiro mu nguudo. N'ebyo byonna nga bimaze okubaawo, era obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo. Alitemya ku b'omu mawanga agali ewala. Alibakoowoola okuva mu buli nsonda y'ensi, ne banguwa mangu okujja. Mu bo tewaliba akoowa, era tewaliba yeesittala kugwa. Tewaliba abongoota, wadde eyeebaka. Enkoba ze beesiba teziriddirira, wadde obuwuzi bw'engatto okukutuka. Obusaale bwabwe bwogi, n'emitego gyabwo gyonna mireege. Ebinuulo by'embalaasi zaabwe, bigumu nga mayinja; ne nnamuziga z'amagaali gaabwe, zidduka nga mbuyaga. Bawuluguma nga mpologoma ekutte ensolo gy'eyizze, n'egyetwalira kyere, ne watabaawo agiwonya. Olunaku olwo bwe lulituuka, baliwuumira ku Yisirayeli, ng'ennyanja bwewuuma. Omuntu bw'alitunuulira ensi eyo, aliraba kizikiza na buyinike, ng'ebire biziyizizza omusana okwaka. Mu mwaka Kabaka Wuzziya mwe yakisiza omukono, nalaba Mukama ng'atudde ku ntebe empanvu era engulumivu, ng'ekirenge ky'ekyambalo kye kijjuzizza Essinzizo. Waggulu w'entebe eyo, waali wayimiriddewo baserafi, buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bibisse ku maaso ge, ebibiri nga bibisse ku bigere bye, ebibiri nga bye yeeyambisa okubuuka. Baali bagambagana nti: “Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mutuukirivu Mukama Nnannyinimagye. Ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.” Eddoboozi lyabwe ekkangufu ne likankanya emisingi gy'emiryango gy'Essinzizo. Essinzizo ne lijjula omukka. Ne ŋŋamba nti: “Zinsanze, nfudde nze, kubanga buli kigambo kye njogera, si kirongoofu, era ndi mu bantu aboogera ebitali birongoofu. Naye ate nzuuno ndabye Kabaka, Mukama Nnannyinimagye.” Awo omu ku baserafi, n'abuuka, n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka, lye yali aggye ku alutaari, ng'alitoozaamu nnamagalo. N'alikoonya ku mimwa gyange, n'agamba nti: “Eryanda lino nga bwe likoonye ku mimwa gyo, obutali bulongoofu bwo buggyiddwawo, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.” Ne mpulira eddoboozi lya Afugabyonna ng'agamba nti: “Nnaatuma ani? Ani anaaba omubaka waffe?” Nze ne ŋŋamba nti: “Nze, nzuuno, tuma nze.” N'aŋŋamba nti: “Genda ogambe abantu abo nti: ‘Weewaawo mujja kuwulira, naye temujja kutegeera. Weewaawo mujja kulaba, naye temujja kwetegereza.’ ” Era n'aŋŋamba nti: “Gubya omutima gw'abantu abo, oggale amatu gaabwe, era ozibe amaaso gaabwe, sikulwa nga balaba n'amaaso gaabwe, nga bawulira n'amatu gaabwe, era nga bategeera n'omutima gwabwe ne bakyuka, ne bawonyezebwa.” Nze ne mbuuza nti: “Mukama wange, ekyo kirituusa ddi okuba bwe kityo?” N'addamu nti: “Okutuusa ng'ebibuga bifuuse amatongo, nga tewali babibeeramu, n'amayumba nga tegakyalimu bantu, n'ensi ng'ezikidde ddala. Nze Mukama ndisengula abantu ne mbatwala wala, ebifulukwa ne biba bingi mu nsi eyo. Naye ekimu eky'ekkumi eky'abantu abo kiriba nga kikyasigaddewo. Newaakubadde nga kiryokebwa, era ne kyokebwa, naye kiriba ng'omunyinya oba omuvule ogutemebwa, ne gusigazaawo ekikolo, ekikolo ekyo ne kiba ensigo kwe gusibukira.” Awo olwatuuka, Ahazi mutabani wa Yotamu era muzzukulu wa Wuzziya, bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, Rezini kabaka wa Siriya, ne Peka mutabani wa Remaaliya era kabaka wa Yisirayeli, ne balumba Yerusaalemu, naye ne kibalema okuwangula. Ab'ennyumba ya Dawudi bwe baawulira nga Siriya yeekobaanye n'Abeefurayimu, kabaka n'abantu be emitima ne gibeewuuba ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa embuyaga. Mukama n'agamba Yisaaya nti: “Genda ne mutabani wo Seyariyasubu, osisinkane Ahazi, mu kifo omukutu gw'ekidiba ky'amazzi eky'engulu we gukoma, mu luguudo olugenda ku kibanja ky'omwozi w'engoye. Omugambe nti: ‘Weekuume, kkakkana, totya, era toggwaamu maanyi. Obusungu obukambwe obwa Rezini n'Abassiriya, n'obwa Peka mutabani wa Remaaliya, buli ng'omukka ogw'emimuli ebiri egiggweeredde, ogunyooka. Siriya ne Yisirayeli ne kabaka waayo bakukoledde olukwe nga bagamba nti mugende mulumbe Buyudaaya mugitiise, mugyewangulire, muteekewo mutabani wa Tabeeli abe kabaka waayo.’ “Naye Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti ekyo tekijja kubaawo, tekijja kutuukirira, kubanga Rezini afuga Siriya yokka n'ekibuga kyayo ekikulu Damasiko. Ate mu myaka nkaaga mu etaano, Yisirayeli eriba yeekutuddekutuddemu, nga terikyali ggwanga limu. Ekibuga ekikulu ekya Yisirayeli ye Samariya, ne kabaka wa Yisirayeli ye Peka mutabani wa Remaaliya. “Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywera.” Awo Mukama n'atumira Ahazi obubaka obulala ng'amugamba nti: “Saba Mukama Katonda wo akuwe akabonero, kave oba ewala ekuzimu, oba waggulu mu bbanga.” Ahazi n'addamu nti: “Sijja kusaba kabonero, era sijja kukema Mukama.” Yisaaya n'amuddamu nti: “Muwulire mmwe, ab'ennyumba ya Dawudi. Tekibamala okukooya abantu ababagumiikiriza mmwe, ne mwagala n'okukooya era ne Katonda wange? Kale Mukama ye ku bubwe alibawa akabonero: omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, era n'amutuuma erinnya Emmanweli. W'alituukira okwawula ekirungi n'ekibi, amata n'omubisi gw'enjuki, ye eriba emmere y'abantu, era olwo ensi z'okyawamu bakabaka baamu bombi, ziriba zaabuliddwa. Ku ggwe, ne ku bantu bo, ne ku b'ennyumba ya kitaawo, Mukama alireeta ennaku ez'ebizibu ebisinga ku byali bizze, okuva obwakabaka bwa Yisirayeli bweyawula ku bwa Buyudaaya. Ajja kubaleetera kabaka wa Assiriya. “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alikoowoola Abamisiri okujja ng'ensowera, nga bava mu bifo eby'ewala, eby'oku mugga gw'e Misiri, n'Abasiriya okujja ng'enjuki, nga bava mu nsi yaabwe. Balijja ne beeyiwa bonna mu biwonvu ebyazika, ne mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bisaka byonna eby'amaggwa, ne mu malundiro gonna. “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alimwesa akamwano k'aligula mu bifo eby'emitala w'Omugga Ewufuraate, ako ye Kabaka wa Assiriya, n'alyoka abamwako enviiri ku mutwe, n'ebirevu, n'obwoya obw'oku mibiri gyammwe. “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, omuntu ne bw'aliba asigazizzaawo ente eyonsa ento, n'endiga bbiri, amata ge zirigabiza galimumala, n'agasundamu n'omuzigo. Ddala buli aliba asigadde mu nsi eyo, anaalyanga omuzigo, n'omubisi gw'enjuki. “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu nga gwa sekeli lukumi, kirizika, nga kimezeemu emyeramannyo n'amaggwa. Abantu banaayiggiranga omwo n'emitego n'obusaale, kubanga ensi eyo yonna eriba ejjudde myeramannyo n'amaggwa. Obusozi bwonna okwalimwanga, buliba buzise emyeramannyo n'amaggwa, ng'omuntu tasobola kugendayo. Waliba wa kusindikayo nte na kulinnyirirwa ndiga.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Kwata ekipande ekinene, okiwandiikeko mu ganyukuta aganene, nti: KUNYAGA MU BWANGU, KUTWALA MU BWANGU. Nze nja kuleeta Wuriya kabona, ne Zekariya mutabani wa Yeberekiya, babe abajulizi bange abeesigwa, okukikakasa.” Awo ne neegatta ne mukyala wange, n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'aŋŋamba nti: “Mutuume erinnya Kunyagamubwangukutwalamangu, kubanga omwana oyo aliba tannamanya kuyita nti ‘Taata’ oba nti ‘Maama’, obugagga bw'e Damasiko, n'ebyo byonna Samariya bye yanyaga, biriba bitwaliddwa kabaka wa Assiriya.” Mukama era n'ayogera nange omulundi omulala, n'aŋŋamba nti: “Abantu bano nga bwe bagaanye amazzi g'akagga Silowa agakulukuta empola, ne basanyukira Rezini ne Peka mutabani wa Remaaliya bajje babayambe, kale Nze Afugabyonna nja kuleeta ku bo amazzi amangi era ag'amaanyi ag'Omugga Ewufuraate, ye kabaka wa Assiriya n'ekitiibwa kye kyonna. Amazzi ago galijja ne gajjuza emikutu gya Buyudaaya gyonna, ne gaalaala ku mbalama zaayo zonna. Galyeyongera ne gakulukuta okutuuka mu Buyudaaya. Galyalaala ne gasituka ne gakoma mu bulago, ne gatuuka eyo n'eyo, ne gajjuza ensi yo yonna gy'ekoma obugazi, ggwe Emmanweli.” Mwekuŋŋaanye mmwe amawanga, naye mulimenyekamenyeka. Mutege amatu mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala, mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mukolere wamu olukwe, naye lujja kugwa butaka; mukkaanye ku kye munaakola, naye tekijja kutuukirira, kubanga Mukama ali wamu naffe. Mukama yayogera nange n'obuyinza bwe obw'amaanyi, n'andabula nneme kugoberera mpisa za bantu bano. Yagamba nti: “Ekyo abantu bano kye bayita okwekobaana, ggwe tokiyita kwekobaana, era totya bye batya, era totekemuka. Mumanye nga Nze Mukama Nnannyinimagye, ndi mutuukirivu. Nze mubanga mutya, era munzisengamu ekitiibwa. Nze kifo ekitukuvu mwe muliwonera. Naye ab'omu bwakabaka bwombi: obwa Yisirayeli n'obwa Buyudaaya, era n'abatuuze b'omu Yerusaalemu nga bwe batakkirizza Nze kubalabirira, ndibafuukira ejjinja kwe beesittala, n'olwazi kwe beekoona ne bagwa, era ndibafuukira omutego n'ekyambika ebibakwasa. Ddala bangi abalinneesittalako ne bagwa, ne bamenyeka. Balitegebwa, ne bakwasibwa.” Mmwe abayigirizwa bange, mukuumire ddala bye mbategeezezza, era munyweze bye mbayigirizza. Nja kulindirira Mukama atuyambe, newaakubadde kaakano akyekwese ab'ennyumba ya Yakobo, kyokka era mu ye mwe nnassa essuubi lyange. Tuutuno, nze n'abaana bange Mukama be yampa. Mukama Nnannyinimagye atuula ku ntebe ye ku Lusozi Siyooni, yatuteekawo tube obubonero n'ebyamagero mu Yisirayeli. Kale bwe babagambanga nti: “Mwebuuze ku basamize n'abalaguzi, abakaaba ng'ebinyonyi era aboogera obwama,” temumanyi ng'abantu basaana kwebuuza ku Katonda waabwe? Ebifa ku bulamu ate byebuuzibwa ku bafu? Mubaddangamu nti: “Tunywerere ku Mateeka n'ebyokulabirako Katonda bye yatuwa.” Abo aboogera ne batajuliza ebyo nga bwe biri, mazima balifiira mu kizikiza nga tebunnakya. Era banaabungeeteranga mu nsi nga beeraliikirira nnyo, era nga balumwa enjala. Nga bali mu kulumwa enjala, banaanyiiganga ne bakolimira kabaka waabwe ne Katonda waabwe. Wadde balitunula waggulu, oba ne batunula wansi ku ttaka, naye tebalibaako kirala kye balaba wabula ennaku n'ekizikiza, kazigizigi ow'okubonyaabonyezebwa, era baligoberwa mu kizikiza ekikutte. Naye ekizikiza tekiribeerera eyo awali okubonyaabonyezebwa. Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali edda zaali zinyoomebwa, naye gye bujja ekitundu ekyo kiriba kyakitiibwa, okuva ku Nnyanja Eyaawakati, okudda ebuvanjuba emitala wa Yorudaani, n'okutuuka e Galilaaya ey'ab'amawanga amalala. Abantu abaabeeranga mu kizikiza, balabye ekitangaala ekingi. N'abaabeeranga mu nsi ekutte kazigizigi ng'ow'emagombe, ekitangaala kibaakidde. Oyongedde ab'omu ggwanga okwala, n'obongera okusanyuka. Basanyukira mu maaso go nga bwe basanyuka nga bakungula, oba ng'abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago. Kubanga ekikoligo ekyali kibazitoowerera, n'omuggo ogwabakubanga ku bibegabega, n'oluga lw'abo ababatulugunya, obimenyeemenye ng'edda bwe wamenyaamenya eggye ly'Abamidiyaani. Ebigatto by'abaserikale abasaatuuka okulumba, era n'ebyambalo ebikulunguddwa mu musaayi, birifuulibwa enku ne byokebwa omuliro. Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi atuweereddwa anaabanga omufuzi waffe. Aliyitibwa wa kitalo, Muwi wa magezi Katonda ow'obuyinza, Kitaffe ow'olubeerera, Omulangira ow'Emirembe. Okweyongera kw'obufuzi bwe n'okw'emirembe gy'alireeta, tekulibaako kkomo. Alifuga nga ye musika wa Dawudi, era ng'obuyinza bwe abwesigamya ku mazima na bwenkanya, okuva lw'alitandika okufuga n'okutuusa emirembe n'emirembe. Ekyo Mukama Nnannyinimagye alikituukiriza. Mukama bye yalabulamu bazzukulu ba Yakobo, bituukiridde ku Ggwanga lya Yisirayeli. Abantu bonna ab'omu Yisirayeli n'abatuuze b'omu Samariya balimanya. Kati boogera n'okwekuza era n'obukakanyavu bw'omutima, nga bagamba nti: “Ebizimbe by'amatoffaali bigudde, naye tujja kuzimbisa mayinja amaase. Enkoma zitemeddwa, naye mu kifo kyazo, tunazzaawo ensambya.” Mukama kyaliva akunga abalabe ba Rezini, n'abakubiriza okulumba Yisirayeli. Abasiriya ebuvanjuba, n'Abafilistiya ebugwanjuba, balyasamya akamwa kaabwe okumira Yisirayeli. Ebyo nga bimaze okuba bwe bityo, Mukama era aliba akyabasunguwalidde. Aliba akyagolodde omukono gwe okubonereza. Naye Abayisirayeli tebeenenya newaakubadde nga Mukama Nnannyinimagye yababonereza, era tebaakyuka kudda gy'ali. Mukama kyaliva asala ku Yisirayeli omutwe n'omukira, amatabi n'ebikoola mu lunaku lumu. Abasajja abakadde era abeekitiibwa gwe mutwe, n'abalanzi abayigiriza eby'obulimba gwe mukira. Abo abakulembera abantu bano babakyamya, abo abakulemberwa ne babuzibwabuzibwa. N'olwekyo Mukama talireka na bavubuka baabwe kubaako buwonero, era talisaasira bannamwandu baabwe, wadde abaana abafiiriddwako bakitaabwe, kubanga abantu bonna bavvoola era bakola ebibi, era bonna boogera eby'obusiru. Ebyo nga bimaze okubaawo, era Mukama aliba akyabasunguwalidde, era ng'akyagolodde omukono gwe okubonereza. Ebyonoono by'abantu, byokya ng'omuliro ogusaanyaawo emyeramannyo n'amaggwa. Gukoleera ne gwokya ebibira, ebire eby'omukka ebikutte ne binyooka, ne birinnya waggulu. Olw'obusungu bwa Mukama Nnannyinimagye, ensi ekoledde omuliro, abantu ne baba ng'enku ze gwokya. Tewali n'omu asonyiwa muganda we. Buli wantu mu nsi eyo, abantu balinyaga buli kamere ke basanga ne bakalya, era ne batakkuta. Balituuka n'okulya abaana baabwe bennyini. Abamanasse n'Abeefurayimu balirumbagana, era balyegatta wamu ne balumba ab'omu Kika kya Yuda. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, era Mukama aliba akyabasunguwalidde, era ng'akyagolodde omukono gwe okubonereza. Zibasanze mmwe abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, ne muwandiika ebinyigiriza abantu, ne mulemesa abanaku okusalirwa amazima, era abaavu ababeera mu bantu bange ne mu banyagako ebyabwe, ebya bannamwandu n'ebya bamulekwa ne mu bifuula omunyago gwammwe. Mulikola mutya ku lunaku Mukama lw'aliweerako ekibonerezo? Mulikola mutya lw'alibatuusaako akabi akaliva mu nsi ey'ewala? Muliddukira w'ani okufuna obuyambi? Era mulikweka wa obugagga bwammwe? Temuliba na kirala kya kukola wabula okubeera awamu n'abasibe, oba okuttirwa mu lutalo ng'abalala. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, Mukama era aliba akyabasunguwalidde, era aliba akyagolodde omukono okubonereza. “Ggwe Assiriya, oli luga lwe nkwata nga nsuguwadde. Omuggo oguli mu ngalo zo, gwe mbonerezesa be nninako ekiruyi. Ndituma Assiriya okulumba eggwanga eritanzisaamu kitiibwa, alumbe abantu be nsunguwalidde. Ndimutuma okunyaga ebintu by'abantu abo, okubatulugunya, n'okubalinnyirira ng'ebitoomi eby'omu nguudo.” “Kyokka Assiriya tagenderera kukola Nze kye njagala, era ye takirowoozanako, wabula ekiri mu mutima gwe, kwe kuzikiriza n'okusaanyaawo amawanga amangi. Yeewaana nti: ‘Abakulu b'amagye gange bonna, bakabaka. Nawangula Ekibuga Kalino, nga bwe nawangula Karukemisi, n'Ekibuga Hamati, nga bwe nawangula Arupaadi. Nawangula ne Samariya nga bwe nawangula Damasiko, era nagolola omukono gwange ne nfufuggaza ensi za bakabaka ezisinza ebifaananyi ebibajje, ebisinga n'ebyo ebiri mu Yerusaalemu ne mu Samariya. Nga bwe nazikiriza Samariya n'ebifaananyi byamu bye basinza, era bwe ntyo bwe ndizikiriza Yerusaalemu n'ebifaananyi byamu bye basinza.’ ” Afugabyonna agamba nti: “Bwe ndimaliriza kye nkola ku Lusozi Siyooni ne ku Yerusaalemu, ne ndyoka mbonereza kabaka w'Assiriya olw'okwewaana n'okwekuza kwe. Kubanga agamba nti: ‘Ekyo nze nakikola. Ndi wa maanyi, ndi mugezi, era ndi mukalabakalaba. Naggyawo ensalo z'amawanga, ne nnyaga ebyobugagga byago, era ng'omusajja kirimaanyi, ne nninnyirira abatuuze baayo. Amawanga mu nsi yonna nasanga gali ng'ekisu ky'ekinyonyi, ne nkuŋŋaanya obugagga bwago ng'akuŋŋaanya amagi agalekeddwa awo, awatali kinyonyi kipapaza kiwaawaatiro, wadde ekyasamya kamwa okukaaba okukanga!’ Embazzi eyinza okwewaana nti ye esinga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza ku muntu agusazisa? N'oluga si lwe luwuuba oyo alukwata, wadde omuggo okusitula omuntu.” N'olwekyo Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye alisindika obulwadde obukozza mu basajja abagevvu aba kabaka w'Assiriya. Era mu kifo ky'ekitiibwa ky'abadde yeemanyi, Mukama alikoleezaawo omuliro ogulimwokya. Mukama oyo ekitangaala kya Yisirayeli, aliba omuliro. Katonda Omutuukirivu wa Yisirayeli aliba ennimi z'omuliro, ogulyokya ne gumalawo mu lunaku lumu abo abali ng'amaggwa n'emyeramannyo. Alizikiriza eggye eriri ng'ekibira n'ennimiro eŋŋimu, ebiweesa Assiriya ekitiibwa, n'asaanyaawo obulamu n'omubiri, ng'ekirwadde kattira bwe kizikiriza omuntu. Emiti egirisigalawo mu kibira ekyo ekya Assiriya, giriba gyamunaganwa, n'omwana omuto ng'ayinza okugibala. Ekiseera kirituuka, abo abaliba basigaddewo ku Bayisirayeli, abawonyeewo ku bazzukulu ba Yakobo, ng'obwesige bwabwe tebakyabuteeka mu ggwanga eryo eryabawangula, wabula nga mu mazima babuteeka mu Mukama, Omutuukirivu wa Yisirayeli. Abatonotono abaliwonawo ku bazzukulu ba Yakobo, balidda eri Katonda ow'amaanyi. Newaakubadde nga kaakano Abayisirayeli bangi ng'omusenyu ogw'oku lubalama lw'ennyanja, naye kitundu butundu ekiriwonawo ku bo kye kirikomawo. Katonda yakisalawo bazikirizibwe nga kibasaanidde. Ddala Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye ajja kuleeta okuzikirira mu ggwanga lyonna, nga bwe yategeka okukikola. N'olwekyo Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye agamba nti: “Mmwe abantu bange, ababeera mu Siyooni, temutya Bassiriya, newaakubadde nga babanyigiriza ne babatulugunya, ng'Abamisiri bwe baakolanga. Kubanga akaseera kasigadde katono nnyo, ndekere awo okubasunguwalira mmwe, olwo bo obusungu bwange bulyoke bubazikirize. Nze Mukama Nnannyinimagye ndibakuba bo ne mbabonereza, nga bwe nattira Abamidiyaani ku Lwazi lw'e Orebu. Ndibatta nga bwe nattira Abamisiri mu nnyanja. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ndibatikkula mmwe omugugu, Abassiriya gwe baabatikka ku kibegabega, n'ekikoligo kye baabambika mu bulago. Ekikoligo kirizikirizibwa olw'obugevvu bwammwe.” Omulabe atuuse e Ayi, ayise mu Migironi, ebintu bye abiterese e Mikumasi. Bayisizza awavvuunukirwa, ne basula e Geba. Ab'omu Kibuga Raama bakankana olw'okutya, ab'omu Kibuga kya Kabaka Sawulo eky'e Gibeya badduse. Muleekaane mmwe ab'e Gallimu! Mutege amatu mmwe ab'e Layisa! Nga zibasanze mmwe ab'e Anatooti! Ab'e Madumenna badduse, n'ab'omu Gebimu banoonya gye banaddukira. Olwaleero omulabe anaasula Noobu. Yeewerera Olusozi Siyooni, aluubirira Ekibuga Yerusaalemu. Laba, Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye alibawanulayo ng'ettabi eritemwa ku muti ne ligwa. Abawanvu abawagguufu, balitemebwa ne bagwa, n'abagulumivu balitoowazibwa. Mukama alibatema n'embazzi, ng'atema emiti mu kibira wakati, Lebanooni ne kisuulibwa ow'amaanyi. Ng'akatabi bwe kasibukira ku kikonge ky'omuti ogutemeddwa, ne mu bazzukulu ba Yesse bwe mulisibukamu Kabaka. Mwoyo wa Mukama aliba ku ye okumuwa amagezi n'okutegeera, era n'okubuulirira. Alimuwa amaanyi era alimusobozesa okumanya Mukama n'okumussangamu ekitiibwa. Essanyu lye linaabeeranga mu kugondera Mukama. Taasalenga misango nga yeesigama ku byakungulu by'alaba oba ku by'awulidde obuwulizi. Kyokka anaasalanga emisango gy'abaavu ng'agoberera mazima, era anaataasanga eby'abatalina mwasirizi ng'akolera ku bwenkanya. Aliwa ekiragiro mu nsi, abantu ne babonerezebwa era ababi ne battibwa. Obufuzi bwe alibwesigamya ku bwenkanya na ku bwesigwa. Omusege n'endiga ento binaabeeranga wamu mu ddembe, era engo n'embuzi ento binaagalamiranga wamu. Ennyana empologoma, n'ente eyassava, zinaabanga wamu ng'omwana omuto ye azirunda. N'ente n'eddubu zinaaliranga wamu, n'abaana baazo bagalamirenga wamu mu ddembe. N'empologoma eneeryanga muddo ng'ente. Omwana akyayonka anaazannyiranga ku kinnya ky'enswera, n'omuto eyaakava ku mabeere, anaateekanga omukono gwe mu kinnya omuli essalambwa. Ku Siyooni, Olusozi lwa Katonda Olutukuvu, tewaliba kikola bulabe wadde okuzikiriza, kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng'ennyanja bw'ejjula amazzi. Olunaku lulituuka, oyo asibuka mu Yesse, n'aba akabonero eri amawanga. Amawanga ago galikuŋŋaanira w'ali, era ekifo mw'afugira kiriba kyakitiibwa. Olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama aliddamu okukozesa obuyinza bwe, abantu be abaliba basigaddewo n'abakomyawo ng'abaggya mu Assiriya, ne mu Misiri ne mu Paturoosi, ne mu Kuusi, ne mu Elamu, ne mu Sinaari, ne mu Hamati, ne mu bizinga ebiri mu nnyanja. Mukama aliwanikira amawanga bbendera, okubalaga nti alikuŋŋaanya n'aleeta wamu abo abaagobebwa mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ng'abaggya gye baasaasaanyizibwa mu njuyi zonna ennya ez'ensi. Obuggya bw'Abeefurayimu buliggwaawo, n'abalabe ba Buyudaaya balizikirizibwa. Obwakabaka bwa Yisirayeli tebulikwatirwa bwakabaka bwa Buyudaaya buggya, ne Buyudaaya teriba mulabe wa Yisirayeli. Balyetaba wamu ne balumba Abafilistiya ebugwanjuba, era ne banyaga abantu ab'ebuvanjuba. Baliwangula Abeedomu n'Abamowaabu, era Abammoni balibagondera. Mukama alikozesa empewo ye ey'amaanyi, n'akaliza ddala ekikono ky'ennyanja y'e Misiri. Era aligolola omukono gwe ku Mugga Ewufuraate, n'agwawulamu obugga musanvu, abantu bwe basomoka nga tebatobye na bigere, ne walyoka wabaawo oluguudo, abantu be Abayisirayeli abaliwonawo mwe baliyita, nga bava mu Assiriya, nga bwe waaliwo olwo Abayisirayeli mwe baayita, nga bava mu nsi y'e Misiri. Olunaku olwo bwe lulituuka, abantu baliyimba nti: “Nnaakwebaza, ayi Mukama. Ggwe eyali ansunguwalidde, obusungu bwo buweddewo, era kaakati onsanyusizza. Ddala Katonda ye Mulokozi wange, nnaamwesiganga ne sitya. Mukama Oyo ow'Olubeerera ge maanyi gange, era Ye gwe nnyimba, Ye wuuyo Omulokozi wange. Ng'amazzi amalungi bwe gasanyusa abayonta, n'abantu ba Katonda bwe basanyuka ng'abalokodde.” Olunaku lulituuka ne mugamba nti: “Mwebaze Mukama, mumutendereze. Mumanyise ab'omu mawanga ebyamagero by'akola. Mubategeeze nga bw'ali oweekitiibwa. Muyimbe nga mutendereza Mukama, olw'ebikulu by'akoze. Mubimanyise ensi yonna. Muyimbe n'essanyu musaakaanye mmwe abatuuze b'omu Siyooni, kubanga Katonda Omutuukirivu owa Yisirayeli, mukulu, ate ali wakati mu mmwe.” Buno bwe bubaka obufa ku Babilooni, Yisaaya mutabani wa Amozi bwe yafuna mu kulabikirwa. “Muwanike bbendera y'olutalo ku lusozi olutaliiko muddo. Mukoowoole abaserikale, mubawenye n'omukono, bayingire mu miryango gy'ekibuga ekirimu abakungu. Nze Mukama, ndagidde abawonge bange, era basajja bange ab'amaanyi, abeenyumiririza mu kitiibwa kyange, mbayise okubonereza abo be nsunguwalidde.” Muwulire okuyoogaana okuli ku nsozi, okuyoogaana ng'okw'ekibiina ky'abantu ekinene, okuyoogaana kw'obwakabaka bw'amawanga agakuŋŋaanye. Mukama Nnannyinimagye akuŋŋaanyizza eggye okulwana olutalo. Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'ensi. Mukama ng'ali wamu n'abo b'akozesa bw'asunguwala, ajja okuzikiriza ensi yonna. Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku Omuyinzawaabyonna lw'alireeterako okuzikirira. Emikono gya buli muntu giritekemuka, era omutima gwa buli omu guliyenjebuka. Abantu bonna balitya, era balijjula obulumi, ng'omukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako mu kutya, amaaso gaabwe ne gajjula ensonyi. Olunaku lwa Mukama luulwo lujja, olunaku olukambwe, luliraga obusungu bwe n'ekiruyi kye, okusaanyaawo ensi, okuzikiriza n'okugimaliramu ddala abalina ebibi. Emmunyeenye kinneemu, ne mu bibinja byazo, zirirekera awo okwaka, n'enjuba erikwata ekizikiza ng'evaayo, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo. Mukama agamba nti: “Ndituusa akabi ku nsi, era ndibonereza abantu olw'ebibi byabwe. Ndikomya olwetumbu lw'abeegulumiza, era nditoowaza buli eyeekulumbaza n'atiisatiisa abalala. Ndifuula abantu okuba ab'omuwendo okusinga zaabu omulungi, ddala baliba ba bbula okusinga zaabu ow'e Ofiri. Ndikankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa n'eva mu kifo kyayo, ku lunaku Nze Mukama Nnannyinimagye lwe ndiragirako obusungu bwange n'ekiruyi. “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abagwira balidduka, nga bali ng'empeewo egobebwa abayizzi, era nga basaasaanye ng'endiga ezitaliiko musumba, buli omu okudda mu bantu be mu nsi y'ewaabwe. Buli gwe baligwikiriza, alifumitibwa, na buli gwe baliwamba, aliba wa kuttibwa. Abaana baabwe abawere balikubwa wansi ne babetentebwa, nga bo bennyini balaba. Ennyumba zaabwe zirinyagibwamu ebintu, ne bakazi baabwe balikwatibwa olw'empaka.” Mukama agamba nti: “Laba ndibawendulira Abameedi abatafa ku ffeeza, era abatasikirizibwa zaabu, ne babalumba. Balikozesa emitego n'obusaale, ne batta abavubuka. Tebalisaasira mabujje, wadde okubaako omwana omuto gwe basonyiwa.” Babilooni ekiweesa obwakabaka ekitiibwa, era ekirungi ekyeyagaza Abakaludaaya, kiriba nga Sodoma ne Gomora, Katonda bye yazikiriza. Tekiriddamu kubeeramu bantu emirembe gyonna. Tewaliba Muwarabu asimbayo weema, wadde abasumba abalundirayo amagana gaabwe. Ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaabeerangayo, n'ennyumba zaabwe zirijjulamu ebintu ebisindogoma. Ne bimmaaya binaabeeranga eyo, n'emisambwa ginaaziniranga eyo. Emisege gye ginaakaabiranga mu minaala gyabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ekinyumu. Ekiseera kya Babilooni eky'enkomerero kiri kumpi kutuuka, n'ennaku zaakyo zinaatera okuggwaako. Mukama aliddamu okukwatirwa ekisa aba Yakobo, addemu okulonda Abayisirayeli babe bantu be, era alibazzaayo mu nsi yaabwe, mwe baba babeera. N'abagwira balijja ne babeeranga wamu ne bazzukulu ba Yakobo abo, ne babeekwatirako ddala. Amawanga mangi galiyamba Abayisirayeli okuddayo mu nsi yaabwe, Mukama gye yabawa, era ab'amawanga amalala baliba abaddu n'abazaana okubaweerezanga. Abayisirayeli baliwamba abo abaabawambanga, era banaafuganga abo abaabajoonyesanga. Ekiseera kirituuka, Mukama n'abawa mmwe okuwummula mu kubonaabona ne mu kutegana, ne mu mirimu emikakali gye mwawalirizibwanga okukola. Mulikudaalira kabaka wa Babilooniya, nga mugamba nti: “Omufuzi kalibukambwe akomye? N'obukambwe bwe kati lufumo? Mukama akomezza obuyinza bw'ab'effugabbi, amenye omuggo gw'obwakabaka bwabwe abaatulugunyanga n'obukambwe amawanga olutata, abaafuganga n'ekiruyi amawanga nga bafuuse bannantagambwako? Ensi yonna kaakano ewummudde, eteredde ntende. Abantu babaguka ne bayimba. Ddala emisizi gijaganya olw'okugwa kwo, n'emivule gy'oku Lebanooni gigamba nti: ‘Kasookedde ofa, tewakyali atutema!’ “Ab'emagombe wansi, bagugumuse ku lulwo, okukwaniriza ng'ojja. Bagolokosa bonna abaliyo, abaali abafuzi ku nsi. Bonna abaali bakabaka, basituse ku ntebe zaabwe. Bonna abo balisaakaanya ne bakugamba nti: ‘Leero naawe ofuuse munafu nga ffe? Ofaananira ddala nga ffe? Ekitiibwa kyo n'ennyimba ze bakuyimbira, bisse, biri magombe! Weeyalidde nvunyu, era nvunyu ze weebisse!’ “Ggwe emmunyeenye y'oku makya, ayaka ennyo n'omyansa, owanuse ku ggulu n'ogwa! Ggwe eyafufuggazanga amawanga, oli ku ttaka omeggeddwa! “Mu mutima gwo walowoozanga ng'olirinnya mu ggulu, osse entebe yo waggulu w'emmunyeenye za Katonda, era ng'olituula ku lusozi balubaale lwe bakuŋŋaanirako, ewala eyo mu bukiikakkono. Wagamba nti olirinnya n'otumbiira era n'ebire n'obiyisa, n'obeerera ddala ng'Oli Atenkanika. Naye ossiddwa magombe, wansi ku ntobo y'obunnya. “Eyo abakulaba, baneewuunyanga ne bagamba nti: ‘Ono ye wuuyo eyakankanyanga ensi, obwakabaka ne buyuuguuma? Ye ono eyazikirizanga ebibuga, ensi n'agifuula eddungu? Ye wuuno ataatanga basibe, kubaleka badde ewaabwe?’ “Bakabaka bonna ab'ensi, baziikibwa mu kitiibwa mu masiro ge babazimbidde. Naye ggwe toliiko malaalo, osuuliddwa kuvundira bweru. Obikkiddwa mirambo gy'abo abattiddwa mu lutalo, ng'osuuliddwa wamu nabo mu kinnya ky'amayinja, n'oba omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere. Nga bwe wazikiriza ensi yo, abantu bo n'obatta, toliziikibwa nga bakabaka banno. Ezzadde ly'abakozi b'ebibi liryerabirwa ennaku zonna. Mutegekere abaana be okuttibwa olw'ebibi bya bajjajjaabwe, baleme kuyimuka ne balya ensi, ne bagijjuza yonna ebibuga.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndirumba Babilooni ne nkizikiriza, kibuleko erinnya n'abawonyeewo, kibuleko omwana n'omuzzukulu. Nze Mukama, bwe ntyo bwe ŋŋambye. Ndifuula Babilooni amaka ga nnamunnungu n'ebidiba by'amazzi, era ndikyera n'olweyo oluzikiriza. Nze Mukama Nnannyinimagye, bwe ntyo bwe ŋŋambye.” Mukama Nnannyinimagye alayidde nti: “Mazima nga bwe ntegese, bwe kinaatuukirira; era nga bwe nsazeewo, bwe kinaakolebwa. Ndittira Abassiriya mu nsi yange, ne mbalinnyirira n'ebigere ku nsozi zange. Olwo ekikoligo kiribavaako mmwe, kye babasibye; n'omugugu gwe babatisse, guliva ku bibegabega byammwe. Ekyo kye ntegekedde ensi, era ngolodde omukono gwange, mbonereze amawanga gonna.” Mukama Nnannyinimagye ky'ateesezza, tewali ayinza kukijjulula, n'omukono gwe ogugoloddwa, tewali ayinza kuguzzaayo. Bino byalangwa mu mwaka, Kabaka Ahazi mwe yafiira. “Mmwe Abafilistiya, temusanyuka wadde ng'omuggo ogwabakuba mwenna gumenyese. Awabadde omusota ogwa nnawandagala waliddawo ssalambwa! Ne mu ggi lyalyo mulivaamu musota ogubuuka mu bbanga, era oguwandula omuliro. 2:4-7; Zek 9:5-7 Mukama ye aliba omusumba aliisa abantu be abanaku ennyo; n'abatalina kantu, balibeera mirembe. Kyokka mmwe Abafilistiya, Mukama alibassa enjala. N'abaliba bawonyeewo nabo balittibwa. Muwowoggane, mukaabe mmwe ababeera mu bibuga! Mujja kusaanawo mmwe, Abafilistiya mwenna! Kubanga ekire eky'enfuufu ekiva ebukiikakkono kijja. Eryo lye ggye ly'abalabe, omutali mutiitiizi! Kale ababaka b'eggwanga eryo balyanukulwa batya? Nti ‘Mukama yateekawo Siyooni era mu kyo abantu be abateeyamba mwe baliddukira.’ ” Buno obubaka bufa ku Mowaabu. Ebibuga bya Mowaabu Ari ne Kiiri birizikirira mu kiro kimu, ne bifuuka matongo. 2:8-11 Abantu b'e Diboni balinnye akasozi, bakaabire eyo amaziga. Abamowaabu bakungubagira ebibuga Nebo ne Medeba. Era okulaga obunakuwavu, basazeeko enviiri n'ebirevu. Abantu bonna mu nguudo, bikutiya bye bambadde. Waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu bibangirizi by'ebibuga biwoobe bye bakuba, nga bakaaba nnyo amaziga. Ab'e Hesubooni ne Eleyaale batema miranga myereere, era eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuukira ddala e Yahazi. N'abaserikale ba Mowaabu bakaaba nga baleekaana, olw'encukwe muli ebakubye. Nnumirwa Abamowaabu abo! Abakungu baabwe baddukira e Zowari, n'e Egulaati Selisiya. Abamu bambukidde mu kkubo ly'e Luhiiti nga bambuka bakaaba amaziga. Abalala bakutte ly'e Horonayimu, nga bakaaba olw'obutaba na ssuubi lya kuwona. Akagga Nimurimu kakalidde. Omuddo ku mabbali gaako guwotose, ebimera ebigimu biweddewo, tewakyali kintu kimerawo. Ebintu ebingi bye bafunye, n'ebyo bye baali baterese, kyebaliva babiddusa nga babiyisa mu Kiwonvu ky'emiti egy'enzingu. Okukaaba kuwulirwa wonna ku nsalo za Mowaabu, okuwoggana kwayo kuwulirwa ne mu Yegulayiimu, ne mu Beereliimu. Amazzi g'e Dimoni gajjudde omusaayi, era Mukama alireeta n'akabi akalala ku bantu baayo. Empologoma zirirya abaliwonawo ku Bamowaabu, abasigaddewo mu nsi eyo. Okuva mu Kibuga Seela ekiri mu ddungu, muweereze ekirabo eky'endiga ento eri Oyo afuga mu Yerusaalemu. Abamowaabu balindira ku mbalama z'Omugga Arunoni, nga babungeetera okwo ng'ennyonyi ezigobeddwa mu kisu ne zisaasaana. Bagamba ab'omu Buyudaaya nti: “Mutubuulire eky'okukola. Mutubikkirire ng'omuti oguwa ekisiikirize mu ttuntu ery'ekyeya. Muleke twewogome mu kyo. Tuli babungeese, mutukweke aweekusifu we bataatulabe. Mutuleke tubeere mu nsi yammwe mutuwonye oyo atuzikiriza, kubanga okunyigiriza n'okuzikiriza bwe birikoma, abo abanyagulula ensi baligenda.” Olwo omu ku b'ezzadde lya Dawudi, alituula ku ntebe ey'obwakabaka. Alifuga abantu nga musaasizi, era ng'alamuza mazima. Aliba mwangu mu kukola ebituufu, era alifugisa bwenkanya. Ab'omu Buyudaaya bagamba nti: “Tuwulidde Abamowaabu nga bwe bali abeekuza. Tumanyi nga beekulumbaza nnyo, era beepanka, kyokka beewaanira bwereere.” Abamowaabu balikaaba, bonna balikaaba olw'okubonaabona. Balinakuwala bwe balijjukira emmere ennungi gye baalyanga mu Kibuga Kiiri Hareseeti. Balituuka okuterebuka. Eby'omu nnimiro z'e Hesubooni biwotose, era n'emizabbibu gy'e Sibuma. Egyo mwe mwasogolwanga omwenge ogwatamiizanga abafuzi b'amawanga. Amatabi gaagyo gaalanda okutuukira ddala e Yazeri ne gatuuka mu ddungu, ne galanda ne ku ludda olulala, ne gasomoka Ennyanja Enfu. Kale ndikaabira emizabbibu gy'e Sibuma, nga bwe ndikaabira Yazeri. Ndifukumula amaziga olwa Hesubooni n'olwa Eleyaale, kubanga amakungula gammwe galisaanikirwa emiranga gy'olutalo. Kaakano tewali asanyuka mu misiri emigimu, tewali ayimba olw'essanyu mu nnimiro z'emizabbibu. Tewali asogola mizabbibu kugikolamu mwenge. Nkomezza emizira gy'abasogozi. Kyenva nnyolwa olwa Mowaabu, ne nennyamira olwa Kiiri Heresi. Abamowaabu balyekooyeza bwereere okugenda mu bifo ebigulumivu okusaba balubaale baabwe. Tebalifunamu mugaso. Obwo bwe bubaka Mukama bwe yawa ku Mowaabu edda. Naye kaakano Mukama agamba nti: “Emyaka esatu, ng'egiragaanibwa oyo akolera empeera, oluliggwaako, ekitiibwa kya Mowaabu kiriba tekikyaliwo. Ku bantu ba Mowaabu abangi, waliba wasigaddewo batono nnyo, era nga tebakyalina maanyi.” Bino bye byalangibwa ku Damasiko: “Laba Damasiko kiggyiddwawo, tekikyali kibuga era kinaabanga ntuumu ey'ebimenyeddwamenyeddwa. Ebibuga bya Aroweri birekeddwawo ttayo. Binaabeeranga malundiro ga ndiga na mbuzi, mwe zinaagalamiranga awatali azikanga. Abeefurayimu banaabanga tebakyaliko bigo bibataasa, nga ne Damasiko tekikyalina bwakabaka. Abasiriya abaliwonawo nabo baliba mu kuswala ng'ab'omu Yisirayeli. Mukama Nnannyinimagye, bw'atyo bw'agambye. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera, ne mu kifo ky'okugejja, n'akogga. Yisirayeli eriba ng'ennimiro esaliddwamu eŋŋaano ekunguddwa. Eriba nkalu ng'omusiri gw'omu Kiwonvu Refayiimu, gwe bamaze okulondamu ebirimba. Naye mu Yisirayeli mulisigalamu abantu abatonotono ng'omuzayiti ogunogeddwako ebibala bwe gusigazaako ebibiri oba ebisatu waggulu ku busongezo obukomererayo, n'ebibala ebina oba ebitaano mu matabi gaagwo amaziyivu. Mukama, Katonda wa Yisirayeli, bw'atyo bw'agambye.” Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abantu balissa omutima ku Mutonzi waabwe, amaaso bagakyusize eri Omutuukirivu wa Yisirayeli. Baliba tebakyesiga zaalutaari ze beekolera n'emikono gyabwe, oba okwesiga ebirala bye bakoze, oba ebifaananyi bya lubaale Asera wadde zaalutaari kwe banyookereza obubaane. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ebibuga eby'amaanyi biriba ebifulukwa ng'ebiri mu bibira n'ebiri ku ntikko z'ensozi, ebyayabulirwa ng'Abayisirayeli batuuka, era birizika ne bifuuka matongo. Ggwe Yisirayeli, weerabidde Katonda akuwonya, era ali ng'olwazi olugumu mwe weewogoma, kyovudde osimba emiti egisanyusa n'ogiwongera balubaale. Naye ne bwe ginaakulirawo ne gimulisizaawo ku makya g'olunaku lw'ogisimbiddeko, era tewaliba bikungulwa, wabula okunakuwala era n'okukungubaga. Ha, wulira okuyira kw'abantu abangi, kuli ng'okuyira kw'ennyanja! Wulira okuwuluguma kw'amawanga, kuli ng'okuwuluguma kw'amayengo ag'amaanyi! Amawanga gawuluguma ng'amayengo g'amazzi amangi. Kyokka Katonda aligakomako, ne gaddukira wala. Galiba ng'ebisusunku ku lusozi ebikuŋŋunsibwa kibuyaga, era galiba ng'enfuufu mu mbuyaga ey'akazimu. Balireeta entiisa akawungeezi, naye we bulikeerera, baliba tebakyaliwo. Ogwo gwe guliba omugabo gw'abo abatunyaga, era ye eriba empeera y'abo abatubbako ebyaffe. Emitala w'emigga gy'e Kuusi, waaliwo ensi ewulirwamu okukubagana kw'ebiwaawaatiro. Ensi eyo etuma ababaka ku nnyanja bayite ku mazzi mu bibaya, ng'egamba nti: “Mugende mu bwangu mu nsi eyawulwamu emigga, mutwalire obubaka abantu abawanvu era ab'olususu oluweweevu, abaakuba ensi yonna entiisa kasookedde babaawo n'okutuusa kati. Obubaka bugamba nti: ‘Mwenna abatuuze b'omu nsi, abantu abali mu buli ggwanga, mutunulanga ne mulaba nga bbendera esimbiddwa ku nsozi, ng'ekkondeere lifuuyiddwa.’ Kubanga Mukama aŋŋambye nti: ‘Mu kifo kyange mwe mpummulira, ndisirika ne ntunuulira, nga ndi ng'ebbugumu eribuubuukira mu kasana akeememula, era ng'omusulo ogusitukira mu lubugumu lw'obudde obw'amakungula.’ Alizikiriza abaserikale b'abantu abo nga tebannalumba, nga bwe kyandikoleddwa ku muti ng'okumulisa kuwedde, n'ebimuli nga bifuuse ebibala ebyengedde, naye okukungula nga tekunnabaawo, oli n'atema amatabi n'agawanulayo yonna gye galandidde. Emirambo gyabwe girirekebwa awo okuvaabirwa ebinyonyi eby'oku nsozi n'ebisolo ebikambwe ebiruvu. Ebinyonyi birigyeriira mu kyeya, n'ebisolo ne bigyekavvulira mu biseera eby'obutiti. Abantu abo abawanvu ab'olususu oluweweevu abaakuba ensi yonna entiisa kasookedde babaawo n'okutuusa kati, era abalina ensi eyawulwamu emigga, ekiseera kirituuka ne baleetera ekirabo Mukama Nnannyinimagye mu kifo kye bamusinzizaamu ku Lusozi Siyooni.” Bino bye byalangibwa ku Misiri. Laba Mukama yeebagadde ekire ekidduka emisinde, ajja e Misiri. Ebifaananyi bya balubaale baayo, birikankanira mu maaso ge, era Abamisiri baliggwaamu omutima. Mukama agamba nti: “Ndireeta olutalo mu Bamisiri buli muntu n'alwana ne muganda we era buli omu ne muliraanwa we, ekibuga ne kirwana n'ekibuga kinnaakyo, ne bakabaka ne bavuganya ku buyinza. Nditabulatabula ebyo Abamisiri bye bategeka, ne mbamalamu amaanyi. Balyebuuza ku balubaale ne ku basamize n'abalogo, ne ku boogererwako emizimu. Ndiwaayo Abamisiri ne bafugibwa omufuzi musibiramubbwa; kabaka omukambwe alibafuga. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze ŋŋambye.” Amazzi ga Kiyira galikendeera, mpolampola omugga ogwo gulikalira. N'emikutu gyagwo giriwunya nga giggwaamu mpola amazzi, ebitoogo n'ebisaalu ne biwotoka. Omuddo n'ebisigibwa byonna ku lubalama lw'omugga ogwo, biriwotoka ne bifa, ne bisaanawo ne bivaawo. Era abaloba n'abavubiramu, balinakuwala ne bakaaba. Amalobo n'obutimba bye balina, biriba tebikyabagasa. Abakola ebirukibwa mu bugoogwa, n'abatunga engoye eza ppamba, biribabula ne basoberwa. Era n'empagi kwe balukira zirimenyebwa zonna, era abo abakolera empeera balibulwa olwo essuubi. Abakulembeze b'e Zowani, gabaweddeko amagezi. Abawabuzi ba Kabaka w'e Misiri bamubuulira bimuwubisa. Kale bamugamba batya nti ddala bo be basika ab'abawi b'amagezi, n'aba bassekabaka ab'edda? Kale kabaka w'e Misiri, baluwa abakuwa amagezi? Kaakano oba bamanyi, bakubuulire Nze Mukama Nnannyinimagye kye nteeseza Misiri. Abakulembeze b'e Zowani gabaweddeko amagezi, n'abakulira Menfiisi nabo bawubisiddwa. Misiri abandigiwabudde, kati baabo bagikyamizza! Mukama abataddemu omwoyo ogw'okuwubisawubisa, ne bawubisa Misiri mu bikolebwa byonna, n'etaga ng'omutamiivu avuyira mu by'asesemye! Kati mu nsi ya Misiri temuli mukulu oba muto, mukulembeze oba afugibwa, akola ebinaagigasa. Ekiseera kirituuka, Abamisiri ne batya ng'abakazi. Balitya ne bakankana, bwe baliraba nga Mukama Nnannyinimagye agolodde omukono gwe okubabonereza. Eggwanga lya Buyudaaya lirikwasa Abamisiri entiisa. Buli awulira nga balyogerako anaatyanga, olw'ebyo Mukama Nnannyinimagye by'ategese okubatuusaako. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, olulimi Olukanaani lulyogerwa mu bibuga bya Misiri bitaano, ng'abantu baayo balayira Mukama Nnannyinimagye. Ekibuga ekimu ku byo kiriyitibwa “Kibuga kya Kuzikirira.” Ekiseera ekyo bwe kirituuka, mu nsi y'e Misiri mulibaamu alutaari ewongereddwa Mukama, era ku nsalo y'ensi eyo kulibaako empagi ey'ejjinja emuwongereddwa. Obwo buliba bubonero era obujulizi obulaga Mukama Nnannyinimagye nga bw'ali mu nsi y'e Misiri. Era Abamisiri bwe balikoowoola Mukama nga banyigirizibwa, alibatumira omuyambi ow'amaanyi alibataasa, n'abawonya. Mukama alyemanyisa mu Bamisiri, ne bamumanya mu kiseera ekyo, ne bamusinza, ne bawaayo gy'ali ebitambiro n'ekitone. Balibaako ne bye bamusuubiza nga beeyama, era bye beeyamye, balibituukiriza. Mukama alibonereza Abamisiri, kyokka ate b'abonerezza alibawonya. Balikyukira gy'ali, ne bamwegayirira, n'abawonya. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, walibaawo oluguudo oluva mu Misiri okugenda mu Assiriya. Abassiriya balijja mu Misiri, n'Abamisiri ne bagenda mu Assiriya, era Abamisiri n'Abassiriya balisinziza wamu Mukama. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Yisirayeli aliba ku lubu lwe lumu ne Misiri era ne Assiriya, era amawanga ago gonsatule, galiweesa ensi yonna omukisa, kubanga Mukama Nnannyinimagye aligawa omukisa ng'agamba nti: “Misiri Eggwanga lyange, ne Assiriya Nze Nzennyini lye natonda, ne Yisirayeli lye neeroboza okuba eryange, gaweebwe omukisa.” Mu mwaka omuduumizi w'eggye mwe yalumbira Ekibuga Asudoodi, ng'atumiddwa Sarugoni Kabaka wa Assiriya, omuduumizi oyo yakikuba n'akiwamba. Mu kiseera kye kimu ekyo, Mukama n'agamba Yisaaya mutabani wa Amozi nti: “Genda weeyambulemu ekikutiya ky'oyambadde, era weenaanulemu n'engatto mu bigere.” Yisaaya n'akola bw'atyo, n'atambula ng'ali bwereere era nga tayambadde na ngatto. Mukama n'agamba nti: “Omuweereza wange Yisaaya amaze emyaka esatu ng'atambula ali bukunya, okulaga ebirituuka ku b'e Misiri n'ab'e Kuusi. Ne kabaka wa Assiriya bw'atyo bw'alitwala abasibe ab'e Misiri n'ab'e Kuusi, abato n'abakulu, nga bali bukunya era nga tebambadde na ngatto, n'amakugunyu gaabwe nga tegabikkiddwako, ekyo kiswazeswaze Misiri. Abo abaali beesiga Kuusi okubayamba, n'abaali beenyumiririza mu Misiri, balisoberwa ne baswala. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abantu ab'oku lubalama lw'ennyanja baligamba nti: ‘Mulabe ekituuse ku be twali twesiga okututaasa Kabaka wa Assiriya! Kale olwo ffe tuliwona tutya?’ ” Bino bye byalangibwa nga bifa ku Ddungu Eririraanye Ennyanja. Nga kibuyaga ava ebukiikaddyo bw'ayitira mu ddungu, n'akabi bwe kaliva katyo mu nsi ey'entiisa. Ndabidde mu kulabikirwa ebizibu ebirigwawo. Ndabye omulyazaamaanyi ng'alyazaamaanya, n'oyo azikiriza, ng'azikiriza! Ggwe eggye lya Elamu, lumba; naawe eggye lya Mediya, zingiza, Katonda amalewo ennaku yonna Babilooni gy'aleeta. Obulumi bwe mpulira, bujula na kunzita! Ndi ng'omukazi alumwa okuzaala, obulumi tebuŋŋanya kulaba na kuwulira. Mpejjawejja nzenna, okwesisiwala kunkanze. Akazikiza ke mbadde neegomba, kati kanfuukidde ka ntiisa. Ndaba ekijjulo ekitegekeddwa, bataddewo abakuumi, batuula ne balya, ne banywa, ne babalagira amangwago nti: “Abakulu mu ggye, musituke, musiige engabo zammwe omuzigo!” Awo Mukama n'agamba nti: “Genda oteekewo omukuumi, alangirire ky'anaalabayo. Bw'alaba ekibinja ky'ababiribabiri, abeebagadde embalaasi, n'abali ku ndogoyi era n'abali ku ŋŋamiya, yeetegereze bulungi, yekkaanye.” Omukuumi n'aleekaana mu ddoboozi ng'ery'empologoma, nti: “Mukama wange, nkuuma wano emisana n'ekiro!” Amangwago ne wajja babiribabiri abeebagadde embalaasi. Omukuumi n'agamba nti: “Babilooni kigudde, kigudde, n'ebifaananyi byonna ebyole ebya balubaale baakyo bimenyese, biri ku ttaka we bigudde.” Ayi abantu bange Abayisirayeli, mubadde muwuulibwa ng'eŋŋaano eri mu gguuliro lyange. Naye kati mbatuusizzaako amawulire ag'ebyo bye mpulidde, ebivudde eri Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli. Bino bye byalangibwa ku Edomu. Waliwo ampita ng'asinziira ku Lusozi Seyiri nti: “Omukuumi, omukuumi ekiro kyagenze kitya? Ekiro kyakuyisizza kitya?” Omukuumi n'agamba nti: “Bujja kukya era buzibe. Bwe mwagala okubuuza, mubuuze, mukyuke, mujje.” Bino bye byalangibwa ku Buwarabu: “Mmwe ebibinja by'Abadedani abatambula, mu malungu g'e Buwarabu mwe mulisula. Mmwe abatuuze b'e Teema, abayonta abaddukira gye muli mubawe amazzi, n'abayala mubawe kye banaalya. Badduka bitala ebisowoddwa, na mitego gya busaale eginaanuddwa; badduka kibambulira kya lutalo.” Afugabyonna aŋŋambye nti: “Omwaka gumu olunaggwaako gumu ng'ogulagaanibwa akolera empeera, tewaliba kitiibwa kya Bakedari kyonna. Abalasi b'obusaale mu Bakedari be basingayo obuzira, naye abaliwonawo batono. Nze Mukama Katonda bwe ntyo bwe ŋŋambye.” Bino bye byalangibwa nga bifa ku kiwonvu ky'Okulabikirwa: Kiki ekibatuuseeko, ekibalinnyisizza ku busolya bw'ennyumba? Ggwe ekibuga ekijjudde okuleekaana, ekikyankalanye, ekiri mu kwesiima, abantu bo abattiddwa tebattiddwa kitala, wadde okufiira mu lutalo. Abakulembeze bo bonna, baddukira wamu ne bawambibwa nga tebalasizza na kasaale, bonna abasangiddwa mu ggwe bawambiddwa wamu, wadde baali baddukidde wala. Kyenva ŋŋamba nti: Muveewo, temuntunuulira! Mundeke ndire, nkungubage. N'okunkubagiza temutegana olw'abantu bange be nfiiriddwa. Kino kiseera kya kwaziirana era kya kunyigirizibwa; kiseera kya kusoberwa, Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye ky'atutuusizzaako mu Kiwonvu ky'Okulabikirwa! Ebisenge by'ekibuga kyaffe bimenyeddwa, emiranga gy'abasaba obuyambi ne giwulirwa mu nsozi. Abaserikale ab'omu nsi Elamu bajjira ku magaali wamu n'abeebagadde embalaasi nga bambalidde emitego n'obusaale. N'abaserikale ab'e Kiiri, engabo, bajja na nsabuukulule. Awo ebiwonvu bya Buyudaaya ebisingayo obugimu, amagaali ne gabijjulamu. Abeebagadde embalaasi ne batalira mu miryango gy'Ekibuga Yerusaalemu. Eby'okwerinda kwa Buyudaaya ne biba nga biggyiddwawo. Kale ebyo bwe byaba bityo, olwo ne mukyukira ebyokulwanyisa ebyali mu luyitibwa Olubiri lw'ekibira. Mwalaba ebituli ebingi ebyakubwa mu Kibuga kya Dawudi, era ne mukuŋŋaanyiza wamu amazzi ag'omu Kidiba Ekyawansi. Ne mubala mu Yerusaalemu amayumba gaamu gonna agalimu, ne mumenyaamenya ku gamu, mugafunemu bye mukozesa okuziba buli awaabomoka. Ne musima oluzzi mu kibuga wakati, mwe muba mukuumira amazzi agava mu kidiba kye mwalinawo edda. Naye ne mutafa ku Oyo eyategeka bino obw'edda, era eyasalawo nti bibeewo. Era mu kiseera ekyo, Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye yali abayita mmwe mukaabe amaziga mukungubage, mwemwe emitwe, mwambale ebikutiya. Naye mu kifo ky'ebyo, mmwe muzze mu ssanyu na kujaguza, kwettira nte na ndiga ne mulya ennyama, ne munywa omwenge, nga mugamba nti: “Ka tulye era tunywe kubanga enkya tujja kufa.” Mukama Nnannyinimagye yennyini yaŋŋamba nti: “Mazima ekyonoono ekyo tekiribasonyiyibwa mmwe, okutuusa lwe mulifa.” Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye bw'atyo bw'agamba. Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye agamba nti: “Genda eri Sebuna oyo omuwanika akulira abakungu mu Ggwanga, omugambe nti: ‘Wano olinawo ki era olinawo ani otuuke n'okwesimira entaana mu lwazi? Kale Mukama alikuvumbagira wadde wafuna obukulu, n'akukasuka lwa maanyi. Ddala alikyuka n'akuwuuba n'akukasuka ng'omupiira n'akusuula mu nsi engazi. Eyo gy'olifiira, era eyo ye walisigala amagaali ge weenyumirizaamu. Olikwasa ensonyi ab'ennyumba ya mukama wo. Mukama alikuggya ku bukulu bwo, n'akuwanula mu kifo kyo ekyawaggulu.’ ” Mukama yagamba Sebuna nti: “Ekiseera ekyo bwe kirituuka ndiyita omuweereza wange Eliyakimu mutabani wa Hilukiya, ne mmwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n'olukoba lwo ne mmuwa obuyinza bwonna bw'obadde olina. Aliba nga kitaawe w'abo ababeera mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya. Ndimuwa obuyinza obujjuvu okulabirira eby'omu bwakabaka bwa Dawudi, ne mmuwa ebisumuluzo, nga bw'aggulawo tewaba mulala aggalawo, era nga bw'aggalawo tewaba mulala aggulawo. Ndimukomerera ng'enkondo n'anywera mu kifo kye, era aliweesa ekitiibwa ab'ennyumba ya kitaawe. “Naye baganda be bonna na buli wa lulyo lwe, balimutikka buli kizibu eky'ab'ennyumba ya kitaawe. Bonna balyerippa ku ye ng'obuleku n'ennyendo era n'ebita byonna bwe biwanikibwa ku nkondo.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, enkondo eyali ekomereddwa mu kifo kyayo n'enywera, erisimbukayo n'egwa, era eyo ye eriba enkomerero y'ebyo ebigiwanikiddwako.” Mukama ye ayogedde. Bino bye byalangibwa ku Tiiro: Mukube ebiwoobe mmwe emmeeri z'e Tarusiisi! Ekibuga kyammwe Tiiro kizikiridde: tewakyali mayumba na mwalo. Amawulire ago gabatuuseeko, nga muva mu nsi y'e Kittimu. 11:21-22; Luk 10:13-14 Musiriikirire olw'ennaku mmwe abatuuze b'oku lubalama lw'ennyanja, mmwe abasuubuzi b'e Sidoni ekigaggawazibwa abantu abawunguka ennyanja. Eŋŋaano y'e Misiri era ekibala kya Kiyira gye bayisa ku nnyanja, y'ekireetera amagoba nga kisuubulagana n'amawanga. Kwatibwa ensonyi ggwe Sidoni, ekibuga ky'ennyanja ekigumu, kubanga weegaanye nti: “Sirumwanga kuzaala era sizaalanga ku mwana. Siyonsanga mwana wa bulenzi, wadde okwola ow'obuwala.” Amawulire agafa ku Tiiro bwe galituuka e Misiri, abaayo balinakuwala nnyo. Mukube ebiwoobe mmwe abatuuze b'oku kizinga, mugende e Tarusiisi. Kino kye kibuga kyammwe ekyabasanyusanga, ekyazimbibwa mu mirembe egy'edda? Kye kyaweerezanga abatuuze baakyo bagende basenge mu bifo eby'ewala? Ani yategeka okukola ebyo ku Tiiro ekibuga ekisuza bakabaka, nga n'abasuubuzi baamu baakitiibwa mu nsi? Mukama Nnannyinimagye ye yakitegeka amalewo okwekuza okuli mu bitiibwa byonna, era alage bw'anyooma abeebitiibwa bonna ku nsi. Mwanjaale mu nsi yammwe ng'Omugga Kiyira mmwe abatuuze b'e Tarusiisi. Tewakyaliwo abaziyiza. Mukama agolodde omukono gwe ku nnyanja, n'ayuuguumya obwakabaka. Alagidde ebigo ebigumu eby'Ekibuga Kanaani bizikirizibwe. Kaakano agambye nti: “Ggwe Ekibuga Sidoni okusanyuka kwo kukomye, n'abantu bo banyigirizibwa. Ne bwe banaddukira e Kittimu, nayo tebalifuna kiwummulo.” Baali Bakaludaaya sso si Bassiriya abafuula Tiiro eky'ensolo ez'omu nsiko. Baakizimbako eminaala okukizingiza, ne bamenya amayumba gaamu, ne bazikiriza byonna ebirimu. Mukube ebiwoobe mmwe emmeeri z'e Tarusiisi, kubanga ekibuga kyammwe ekigumu kizikiriziddwa. Ekiseera kijja kutuuka, Tiiro kyerabirwe okumala emyaka nsanvu, ng'egya kabaka omu gy'awangaala. Ensanvu egyo bwe giriggwaako, ebiribeera mu Tiiro, biriba ng'ebiri mu luyimba oluyimbibwa ku malaaya: “Kwata ennanga yo oyiteeyite mu kibuga ng'oli nayo, ggwe malaaya eyeerabirwa, ogikube bulungi nga bw'oyimba oluyimba oluseeneekerevu, balyoke bakujjukire.” Emyaka ensanvu bwe giriggwaako, Mukama alireka Tiiro kidde ku bye kyakolanga edda. Kiriddamu okusuubulagana n'obwakabaka bwonna mu nsi, yonna gye busaasaanidde. Bye kirisuubula byonna era n'amagoba, biriwongerwa Mukama. Tekiribyetuumako, wadde okubyeterekera mu mawanika, naye abasinza Mukama be balibikozesa okugula emmere gye balya ebamala, n'engoye ennungi. Laba, Mukama ensi aligimalamu buli kintu, aligizikiriza n'agifuula matongo. Aligivuunika n'asaasaanya abagibeeramu bonna. Ekiseera kirituuka abantu bonna ne bayisibwa bumu: abantu baabulijjo ne bakabona, abaddu ne bakama baabwe, abazaana ne bagole baabwe, abaguzi n'abatunzi, abawola n'abo abeewola, asasula era n'oyo asasulwa. Ensi eriggyibwamu buli kintu, n'eba ng'enyaguluddwa. Ekyo Mukama ye akyogedde, tekirirema kutuukirira. Era ensi yonna ekala, ebigiriko ne biwotoka. Ensi eggwaamu amaanyi, buli kyayo ne kiyongobera. Abantu abeekitiibwa nabo balitoowazibwa. Ensi abantu bagyonoonye olw'okumenya amateeka ga Mukama n'olw'okusobya by'alagira, ne bateekako n'okumenya endagaano ye eteri ya kuggwaawo. Ensi kyevudde ekolimirwa, n'abatuuze baamu ne basingibwa omusango era bangi ne bazikirizibwa. Abasigalawo be batono. Emizabbibu egisogolwa giwotose, omwenge gwagyo ne gukendeera. Abaali basanyuka bonna, kati bali mu kuwuubaala. Abaali bakola ebinyumu nga bakubiramu ebivuga ng'eno bwe baleekaana, ebyo tebakyabikola. Baakomya okunywa omwenge nga bayimba n'ennyimba. Abaali bagunywa batamiire, kati gubakaayirira. Ekibuga kikyankalanye, buli omu yeggalira mumwe, abayingira tabakkiriza. Abali mu nguudo baleekaana kubanga tebalina mwenge. Ebinyumu tebikyakolebwa, essanyu lyonna ligenze. Ekibuga kisigadde matongo. Emiryango gyakyo bagikubye, balese egyo bagimenye. Bwe kityo bwe kiriba mu nsi, mu buli ggwanga. Kiriba nga bwe kibeera amakungula nga gawedde: ng'emizayiti ginogeddwa, nga n'emizabbibu tekukyali. Abo abaliba bawonyeewo, baliyimusa amaloboozi ne bayimba n'essanyu eringi, ne batenda ekitiibwa kya Mukama nga ku ludda oluliko ennyanja gye basinziira. N'abebuvanjuba balimutendereza. Abo ababeera okumpi n'ennyanja baligulumiza Mukama, Katonda wa Yisirayeli. Tuliwulira ennyimba eziva ku nkomerero y'ensi nga zitenda Omutuukirivu. Kyokka nze ŋŋamba nti: Nzigwerera, nzigwerera, nga zinsanze nze! Kubanga abalyamu enkwe beeyongera okulyamu enkwe, era enkwe zaabwe zeeyongera bweyongezi! Ggwe omutuuze w'omu nsi entiisa era n'obunnya wamu n'omutego biteeze ggwe. Ebyo nga bimaze okubaawo olwo buli alidduka awone entiisa, aligwa ate mu bunnya. Oyo asituka n'avaayo mu bunnya, alikwatibwa olwo mu mutego. Enkuba erifukumuka okuva mu bire, emisingi gy'ensi ne ginyeenyezebwa. Ensi eryetemeramu ddala, era erimerengukira ddala. Ensi erinyeenyezebwa nnyo. Ensi eritagatta ng'omutamiivu, eriyuuguumizibwa ng'ensiisira, erizitoowererwa ebibi byayo, erigwa n'eteddayo kuyimuka. Ekiseera kijja kutuuka, Mukama abonereze ab'obuyinza abali eyo mu bbanga, n'abafuzi abali ku nsi. Ab'obuyinza abo n'abafuzi, balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe abateekeddwa mu bunnya. Balisibirwa mu kkomera, era balibonerezebwa nga wayiseewo ennaku eziwera. Olwo omwezi gulikwata ekizikiza n'enjuba erigaana okwaka, kubanga Mukama Nnannyinimagye ye aliba kabaka ku Lusozi Siyooni, ne mu Yerusaalemu kyonna, ne mu maaso g'abakulembeze ekitiibwa kye kiryeyoleka. Ayi Mukama, ggwe Katonda wange. Nnaakugulumizanga, nnaatenderezanga erinnya lyo, kubanga okoze ebyamagero. Otuukirizza n'obwesigwa n'amazima ebyo bye wateesa edda. Kubanga ekibuga okifudde matongo. Omenyewo ebigo byakyo ebigumu. Embiri z'abalabe baffe tebikyali bibuga era teziriddamu kuzimbibwa. Kale abantu ab'amaanyi banaakussangamu ekitiibwa, n'ebibuga by'amawanga amakambwe tebiiremenga kukutya. Kubanga oli kigo ekigumu abantu abanaku n'abaavu mwe bafunira ekiddukiro, ne bawonera omwo kibuyaga; ng'era kye kisiikirize mwe bawonera ebbugumu, kubanga obusungu bw'abakambwe buli ng'enkuba ekuba ku bisenge ng'erimu ne kibuyaga, era buli ng'ebbugumu mu nsi enkalu. Naye ggwe, ayi Mukama, osirisizza abalabe baffe. Okkakkanya okuleekaana kw'abakambwe ng'ekire bwe kiweweeza ebbugumu ery'omu ttuntu. Ku Lusozi luno Siyooni Mukama Nnannyinimagye alifumbira amawanga gonna ekijjulo eky'ebyassava omuli ebirungo, era eky'omwenge omuka omuwoomu. Alizikiririza ku lusozi luno ennaku esaanikidde abantu, era ebuutikidde amawanga gonna. Mukama Afugabyonna, alizikiriza okufa kuggweewo, obutaddawo ennaku zonna. Alisangula amaziga mu maaso gonna, era alimalawo obuswavu bw'abantu be bwe baalina mu nsi yonna. Mukama yennyini ye ayogedde. Kale bwe kirituukirira, baligamba nti: “Mulabe, Katonda waffe wuuno. Tubadde tumulindirira, era anaatuwonya. Ye ye Mukama. Tubadde tumulindirira, era kaakano tusanyuka, era tujaguza, kubanga atuwonyezza.” Mukama alikuuma Olusozi luno Siyooni, naye Abamowaabu balirinnyirirwa ng'ebisubi bwe birinnyirirwa ku ntuumu y'obusa okukolamu ebigimisa. Zef 2:8-11 Balyanjuluza emikono gyabwe, ng'omuntu awuga bw'agyanjuluza, kyokka Mukama alibamalamu olwetumbu lwabwe, emikono gyabwe ne gibulwa ageeyamba. Alizikiriza ebigo byabwe ebigumu era eby'ebisenge ebigulumivu, abisuule wansi ku ttaka okutuukira ddala mu nfuufu. Olunaku lulituuka, oluyimba luno ne luyimbirwa mu Buyudaaya nti: “Tulina ekibuga eky'amaanyi. Katonda yennyini ye yakiteekako ebigo n'enkomera ebikitaasa. Mugguleewo emiryango gyakyo ab'eggwanga eryesigwa, era abakola ebituufu, bayingire. Ayi Mukama, okuuma mu mirembe emijjuvu oyo asuubira mu ggwe, kubanga akwesiga. Mwesigenga Mukama ennaku zonna kubanga Mukama lwe lwazi omwewogomwa emirembe gyonna. Atoowazizza abo abaali beegulumiza. Azikirizza ekibuga kyabwe ekigumu, akissizza wansi ku ttaka, ne kituukira ddala mu nfuufu. Kaakano kirinnyirirwa bigere bya baavu n'eby'abali mu bwetaavu. “Ekkubo ly'abeesimbu ggolokofu, era ggwe ayi Mukama nnannyini bugolokofu, ggwe olibaluŋŋamya. Weewaawo ayi Mukama, tugoberera ky'oyagala, ne tusuubira mu ggwe. Era mu kukujjukira mwe tufunira bye twegomba. Omutima gwange gukwegomba ekiro, omwoyo gwange ne gwewaayo okukunoonya, kubanga bw'osala emisango mu nsi abatuuze baamu lwe bayiga obwenkanya. Ababi ne bwe bakolerwa eby'ekisa, era tebayiga kukola bituufu. Ne mu nsi y'abantu abeesimbu era bakoleramu ebikyamu, ne batalaba bukulu bwa Mukama. Ayi Mukama, omukono gwo ogugolola okubabonereza, naye tebalaba. Leka baswale era baboneebone. Bawe ekibonerezo ky'otegekedde abalabe bo. Balage bw'olumirwa abantu bo. “Ayi Mukama, ggwe otuteerawo emirembe kubanga ne bye tukola, ggwe obisobozesa okulama. Ayi Mukama Katonda waffe, tufugiddwako n'abalala abatali ggwe, naye ggwe wekka, ggwe tumanyi ng'Omufuzi waffe ow'oku ntikko. Abo kaakano bafudde, tebakyali balamu; bafuuse bagenzi era tebakyadda, kubanga wababonereza n'obazikiriza, era tewaliba abajjukira. Ogaziyizza Eggwanga lyaffe, ayi Mukama oligaziyizza; ogaziyizza ensalo zaalyo zonna, ekyo ne kikwongerako okuweebwa ekitiibwa. Ayi Mukama, abantu bo bwe baalaba ennaku, ne bajja gy'oli; bwe wababonereza, ne bakuwanjagira. Ng'omukazi ali olubuto bw'alumwa ebisa n'akaaba ng'ebiseera bye eby'okuzaala bituuse, naffe bwe tutyo, ayi Mukama, bwe twabanga mu maaso go. Twali lubuto, ne tulumwa okuzaala, naye tewali kye twazaala. Tetulina kya mugaso kye tukoledde nsi, n'abatuuze baamu tetubayigirizza kituufu. “Abantu bo abafudde baliddamu obulamu, abafu abo balizuukira. Bonna abeebase mu nfuufu, balizuukuka ne bayimba olw'essanyu. Ng'amatondo g'omusulo gw'oku makya bwe gaweweeza ensi, ne Mukama bw'atyo bw'alizzaamu abo obulamu abaafa edda.” Mujje mmwe abantu bange muyingire mu bisenge byammwe, mweggalire okumala akaseera, okutuusa obusungu bwa Katonda lwe buliggwaawo. Kubanga Mukama wuuyo avudde mu ggulu gy'abeera n'ajja okubonereza abantu ku nsi, olw'ebibi byabwe. Obutemu obwakolebwa ku nsi mu nkukutu bulimanyibwa mu lwatu. Ettaka teriryeyongera kukweka abo abattibwa. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alikozesa ekitala kye ekinene eky'amaanyi era eky'obwogi, okubonereza Lukwata ogusota ogwenyogootola, Lukwata ogusota oguzinga amakata, era alitta gugoonya ogubeera mu nnyanja. Ku lunaku olwo, Mukama aligamba nti: “Mulabe ennimiro yange ennungi ey'emizabbibu. Mugiyimbire. Ngikuuma era ngifukirira amazzi buli kaseera. Ngirabirira emisana n'ekiro, waleme kubaawo kintu na kimu kigyonoona. Ndekedde awo okugisunguwalira. Singa gabadde maggwa na katazzamiti nga bye nnina okulwanyisa, nandibyokedde wamu byonna. Naye oba ng'abalabe b'abantu bange baagala okubakuuma, batabagane nange. Weewaawo, batabagane nange.” Mu biseera ebirijja, Abayisirayeli bazzukulu ba Yakobo, balisimba emirandira ng'omuti, balimulisa ne baanya, era balijjuza ensi yonna ebibala. Yisirayeli, Mukama tagibonerezza nnyo na bukambwe, nga bw'abonerezza abalabe baayo, era yo tefiiriddwa bantu baayo bangi. Mukama yabonereza abantu be ng'abawaŋŋangusa. Yabakuŋŋunsa ne kibuyaga we omukambwe, ava ebuvanjuba. Abayisirayeli bwe balimenyaamenya alutaari za balubaale, amayinja gaazo ne bagasekulasekula ng'ennoni, alutaari ezo ne zitaddayo kwoterezebwako bubaane, era ne watasigalawo kabonero ka Asera, lubaale omukazi, olwo lwe balisonyiyibwa ebibi byabwe. Ekibuga ekyabangako ebigo ebigumu kaakano kifuuse kifulukwa, matongo agalekeddwawo ng'eddungu. Lifuuse ddundiro, amagana mwe gawummulira, ne geeriira ku makoola g'emiti. Amatabi g'emiti gyamu bwe galiwotoka, galiwogolwa, abakazi ne bagatyaba enku. Abantu nga bwe batalina magezi, tebalisaasirwa yabatonda, wadde okukwatirwa ekisa. Olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama alikuŋŋaanya abantu be Abayisirayeli okuva ku Mugga Ewufuraate, okutuuka ku kagga ak'oku nsalo n'e Misiri, ng'omuntu bw'akuŋŋunta eŋŋaano n'agyawula mu bisusunku. Olunaku olwo bwe lulituuka, ekkondeere eddene lirifuuyibwa okuyita Abayisirayeli bonna ababadde banaatera okufiira mu nsi ya Assiriya, n'ababadde ababoole mu Misiri, ne bajja basinziza Mukama ku lusozi olutukuvu mu Yerusaalemu. Obwakabaka bwa Yisirayeli obw'abeekuza era abatamiivu, nga zibusanze! Ekitiibwa kyabwe kiseebengeredde. Kiri ng'engule ez'ebimuli ebiwotose, eziri ku mitwe gy'abakulembeze baakyo abeemalidde mu kunywa omwenge. Ddala Mukama alinawo ow'amaanyi era omuzira, anaatera okubalumba. Oyo ali nga kibuyaga alimu omuzira n'embuyaga ezikiriza, ali ng'amazzi amangi ag'amaanyi, agajja ne ganjaala ennyo. Bw'atyo alitalaaga ensi n'agizikiriza. Okwekuza kw'abakulembeze abatamiivu kulirinnyirirwa n'ebigere. Ekitiibwa ky'abakulembeze abo abatamiivu, ekiseebengerera, kiriggwaawo ng'ebibala by'emitiini ebisooka okwengera ng'ekyeya tekinnatuuka, ebinogebwa ne biriibwa amangu ddala nga byakengera. Ekiseera kijja kutuuka Mukama Nnannyinimagye abe engule eyeekitiibwa era ennungi amakula, ey'abantu be abaliwonawo. Aliwa omwoyo ogw'obwenkanya abalamuzi abasala emisango, era aliwa amaanyi abaserikale abataasa emiryango gy'ekibuga, okukitaasa mu lutalo. Bakabona n'abalanzi nabo boonooneddwa omwenge: ebitamiiza bibawabizza, omwenge gubasaanyizzaawo. Batambula batagatta olw'obutamiivu, abalanzi ne batategeera bibalagibwa mu kulabikirwa, ne bakabona abatamidde ne batasala bulungi nsonga eziba zibaleeteddwa. Emmeeza eziri we batudde zonna zijjudde bisesemye, tewakyali kifo kiyonjo. Banneemulugunyiza nga bagamba nti: “Oyo ayigiriza ani? Era ani gw'ajja okubuulirira? Mpozzi asomese abo abato abaakava ku mabeere! Kubanga ayigiriza kiragiro ku kiragiro, lunyiriri ku lunyiriri. Wano n'akuwaayo katono, era ne wali, katono.” Oba tebaagala kuwulira bye ŋŋamba, Mukama alikozesa abagwira aboogera olulimi olulala, n'abategeeza ky'ayagala. Yabagamba nti abo abakooye babawenga ekiwummulo, naye ne bagaana okuwulira. Mukama kyaliva abayigiriza kiragiro ku kiragiro, lunyiriri ku lunyiriri, wano n'abawaayo katono, era ne wali katono, balyoke bagende bagwe kyabugazi bamenyeke, bategebwe, bakwasibwe. Kale mmwe abanyoomi abafuga abantu bano ab'omu Yerusaalemu, muwulire, Mukama ky'agamba nti: “Nga bwe mwewaanye nti mukoze endagaano n'olumbe, mutegeeraganye n'amagombe, era nti ekikangabwa ekyanjaala bwe kiriyita mu nsi tekiribatuukako mmwe, kubanga eby'obulimba bye mufudde ekiddukiro kyammwe era mwekwese wansi w'obulimba!” Mukama Afugabyonna kyava agamba nti: “Mulabe, nteeka ejjinja mu Siyooni, ejjinja erimaze okugezesebwa, libe ejjinja ery'omu nsonda ery'omuwendo ennyo, erinywerezeddwa ddala wansi. Oyo eyeesiga ejjinja eryo taterebuka. Obwenkanya bwe ndifuula olukoba olugera, n'obutuufu bwe buliba omuguwa ogutereeza.” Amayinja ag'omuzira galyerawo obulimba bwe mwewogomamu, n'amazzi galyanjaala ne gazikiriza ekifo kye mwekwekamu. Endagaano yammwe gye mwakola n'okufa erimenyebwawo, n'okutegeeragana kwammwe kwe mwategeeragana n'amagombe, kulikoma. Ekikangabwa ekiryanjaala bwe kiriyita mu nsi, kirireka kibalinnyiridde wansi Buli lwe kinaayitanga mu nsi, kinaabalinnyiriranga buli lukya, ka bube misana, ka bube kiro. Era buli bubaka obuva eri Katonda, bunaabanga bwa ntiisa nsa. Muliba ng'omuntu asula ku kitanda ekimpi ky'atayinza kwegolorerako, nga n'ekyokwebikka kyakwo kifunda, tekimubunya. Mukama alisituka n'alwana, nga bwe yalwana ku Lusozi Peraziimu. Alisunguwala nga bwe yasunguwala mu kiwonvu kye Gibiyoni, alyoke akole ky'ayagala okukola, akole omulimu gwe ogwewuunyisa era ebikolwa bye eby'amagero. Kale okulabula temukunyooma, enjegere ezibasibye zireme kunywezebwa, kubanga mpulidde nga Mukama Nnannyinimagye Afugabyonna, amaliridde okusaanyaawo ensi eno. Mutege amatu muwulire kye ŋŋamba, musseeyo omwoyo ku kye mbategeeza. Omulimi bw'alima ennimiro ze nga yeetegekera okusiga, tazitegeka lutata. Obudde bwonna tabumala mu kukabala, na kukuba mavuunike, na kwanjala. Bw'amala okuttaanya ettaka lyonna, asigamu ensigo ze z'ayagala: ng'ez'ebijanjaalo, soya, oba kasooli. Asiga eŋŋaano ne bbaale ng'abitegeka mu nnyiriri, ne ku nsalosalo y'ennimiro ze n'asimbako ebirime ebirala. Amanya okukola omulimu gwe, kubanga Katonda we amuyigiriza. Ebijanjaalo tebiwuulibwa na musekuzo muzito, kye kimu era ne kawo. Naye bakozesa muggo ogutaabisekulesekule. N'eŋŋaano ey'emigaati tagiwuula ng'agibetenta, wabula agyegendereza, empeke ne zisigala nga nnamba. Era ago gonna amagezi gava wa Mukama Nnannyinimagye, omuwi w'amagezi ow'ekitalo ategeka eby'amagezi ebyereere era bulijjo ebituukirira. Katonda agamba nti: “Zikusanze ggwe, Ariyeeli, Yerusaalemu ekibuga Dawudi mwe yakuba ensiisira ye. Mugatte omwaka ku mwaka, n'embaga enkulu muleke zibeewo nga bwe ziddiriŋŋana, olwo mbonereze Ariyeeli. Walibaawo okukaaba n'okunakuwala, era ekibuga ekyo kiriba ng'alutaari yange yennyini. Ndikirumba ku buli ludda, ne nkisiisirako, era ne nkizimbako ekigo, ne nkizingiza enjuyi zonna. Yerusaalemu, oliba ng'omuzimu ogufuba okwogera nga gusinziira wansi mu ttaka, eddoboozi lyo nga lya kaama, okuva eyo mu nfuufu. “Naye ebbiina ly'abalabe bo lirifuumuulwa ng'enfuufu, n'ebibinja byabwe eby'entiisa birifuumuuka ng'ebisusunku, ate mu kaseera mpawekaaga. Nze Mukama Nnannyinimagye ndikutaasa nga nkozesa okubwatuka n'okukankana kw'ensi, ne kibuyaga akunta, n'ennimi ez'omuliro. Amagye g'amawanga gonna agalwanyisa ekibuga ky'alutaari ya Katonda, ne galumba ebigo byakyo ebigumu, ne gakiteganya bulala, galivaawo ng'ekirooto, oba ng'ebyefaanaanyirizibwa mu kiro. Ng'omuyala bw'aloota ng'alya, n'azuukuka ng'enjala emuluma; oba ng'omuyonta bw'aloota ng'anywa, kyokka w'azuukukira mu tulo ng'ennyonta emuli bubi, azirika, ng'emukazizza n'emimiro, n'amagye gonna agakuŋŋaana okulwanyisa Olusozi Siyooni nago bwe galiba bwe gatyo.” Mudde awo mwewuunye! Mwesiruwaze, muzibe amaaso! Mutamiire, nga temunywedde mwenge! Mutagatte, nga temukombye ku kitamiiza! Kubanga Mukama abataddemu omwoyo oguleeta otulo otungi era abazibye amaaso, mmwe abalanzi, asibye kantuntunu ku mmwe; nammwe abalaguzi emitwe gyammwe agibisseeko. Amakulu gonna ag'okulabikirwa, gafuuse ng'ekitabo ekisibiddwako envumbo. Bwe kitwalirwa amanyi okusoma ne bamusaba nti: “Soma kino,” abaddamu nti: “Sisobola, kubanga kisibiddwako envumbo.” Bwe bakiwa ataayiga kusoma ne bamusaba nti: “Soma kino,” abaddamu nti: “Ssaayigirizibwa kusoma.” Awo Mukama n'agamba nti: “Abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya ku mumwa, nga kikoma mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe tegindiiko. N'okwandibadde okunsinza, bakuuma bulombolombo obubalagirwa abantu. Kale ndikola mu bantu bano ekyamagero kye balyewuunya. Amagezi g'abagezi mu bo, galibula, n'okutegeera kw'abakungu baabwe, kulikwekebwa.” Zibasanze abo abeerimba mbu bakweka Mukama bye bateesa, era abalina bye bakolera mu kizikiza. Bagamba nti: “Ani atulaba? Ne bye tukola ani abimanyi?” Muvuunikira ddala ebintu! Omubumbi ageraageranyizibwa n'ebbumba? Ekintu omuntu ky'akoze, kiyinza okumugamba nti: “Tewankola?” Oba ekintu ekibumbibwa, kiyinza okugamba akibumba nti tategeera? Ng'enjogera bw'egamba, akaseera kabulayo katono nnyo, ekibira ekikwafu eky'e Lebanooni kifuulibwe ennimiro eŋŋimu, n'ennimiro eŋŋimu eddemu okuba ekibira. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, kiggala aliwulira ebimusomerwa mu kitabo, n'amaaso ga muzibe agabadde mu kizikiza, galitunula ne galaba. Abantu abeetoowaze balyeyongera okusanyukira mu Mukama, n'abaavu balyesiimira mu Mutuukirivu wa Yisirayeli, kubanga omulabe ow'entiisa alidibizibwa, n'omunyoomi alikomezebwa; n'abo bonna abatafa ku bya butuukirivu balizikirira. Katonda alizikiriza abo abawaayiriza bannaabwe emisango gye batazzizza, n'abo abazibira eyagizza aleme kubonerezebwa, era ne balemesa omutuufu okusalirwa amazima. Mukama eyanunula Aburaamu kyava ayogera ku nnyumba ya Yakobo, nti: “Aba Yakobo tebaliddamu kuswazibwa, n'amaaso gaabwe tegaliddamu kusiiwuuka. Bwe muliraba ku baana be ndibawa mmwe, mulitegeera bwe ndi Omutuukirivu wa Yakobo. Mulinzisaamu ekitiibwa Nze Katonda wa Yisirayeli. N'abo abasirusiru balifuuka abategeevu, n'abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.” Mukama agamba nti: “Zibasanze abaana abajeemu, abagoberera entegeka ze sikoze, era abakola endagaano ey'enkolagana n'abalala nga Nze sikkirizza, ne bongera ekibi ku kibi. Bagenda basabe obuyambi e Misiri nga tebanneebuuzizzaako. Beesize amaanyi ga Misiri, ne bagenda eri Kabaka waayo okumusaba abakuume. Amaanyi ga kabaka w'e Misiri kyegaliva gabafuukira ensonyi, n'okwesiga okukuumibwa Misiri, ne kubaleetera okuswala. Newaakubadde ababaka baabwe bamaze okutuuka mu bibuga Zowani ne Hanesi ebya Misiri, abantu ba Buyudaaya balikwatibwa ensonyi, olw'okwesiga abantu abatayinza kubagasa wadde okubayamba, naye ab'okubaswaza n'okubaleetera okunenyezebwa.” Kino kye kyalangibwa nga kifa ku nsolo ez'omu bukiikaddyo: ababaka bayita mu nsi ey'emitawaana n'obubenje, erimu empologoma ensajja n'enkazi, n'emisota egy'obusagwa, n'egibuuka era egiwandula omuliro. Batikka ebyobugagga byabwe ku ndogoyi n'ebintu byabwe eby'omuwendo ennyo ku mabango g'eŋŋamiya, babitwalire abantu abo abatagenda ku bagasa. Obuyambi bwe banaafuna e Misiri bujja kubafa bwereere, tebuliiko kye bugasa. Kyenvudde mpita Misiri Ekikulejje Rahabu ekitaluma. “Kale genda okiwandiike ku kipande nga balaba, era okiwandiike ne mu kitabo, kibe obujulizi obw'olubeerera obukakasa obujeemu bw'abantu bano. Bulijjo abantu bano bajeemu, abakolera ku bulimba. Bulijjo tebakkiriza kugondera Mateeka ga Mukama. Bagamba abalabikirwa era n'abalanzi nti: ‘Mukomye okulabikirwa Temulanga bituufu bye mulaba. Temutubuulira bya mazima wabula ebyo ebitunyumira. Mulange ebitulimba. Temutwekiika mu maaso, kuziba kkubo lyaffe. Mulekere awo okutulaga Omutuukirivu wa Yisirayeli.’ ” Omutuukirivu wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Nga bwe munyoomye ebyange ne musiima okujooga n'okukola eby'effujjo, ne mweyinula ebyo, muzzizza musango ogubafudde ekisenge ekigulumivu ekizzeemu olwatika. Mujja kubomoka mugwe mangwago. Mulyatika ng'ekintu eky'ebbumba ne mumenyekamenyeka, obutasigalawo katundu ka luggyo kayinza kusena muliro mu kyoto, wadde amazzi mu kidiba.” Mukama Afugabyonna Omutuukirivu wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Mudde gye ndi, muweere, olwo Nze ndyoke mbayambe. Mutereere, munneesige, mulyoke mube ba maanyi.” Naye mmwe mugaanye! Mugamba nti: “Nedda! Tujja kwebagala embalaasi tudduke abalabe baffe.” Kituufu mujja kudduka. Embalaasi zammwe mulowooza nga zidduka nnyo. Naye ez'abo ababawondera ze zisinga okuba n'embiro. Omu bw'alibaboggolera, mmwe mulidduka lukumi. Bwe muliboggolerwa abataano, olwo mwenna mulidduka, ne musigala kinnoomu ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, ne bbendera eri ku kasozi. Wabula Ye Mukama alinze ng'ayagala abakwatirwe ekisa. Yeetegese okubasaasira, kubanga Mukama Katonda bulijjo by'akola byonna bituufu. Beesiimye wamma bonna abamwesiga. Mmwe abantu ba Siyooni ababeera mu Yerusaalemu, temukyaddamu kukaaba maziga. Mukama alibakwatirwa ekisa: alibawa kye mumusaba oluliwulira nga mukaaba. Newaakubadde Mukama alibaleka okulaba ennaku n'okubonaabona, kyokka ye yennyini alibayigiriza. Era Ye, Omuyigiriza wammwe, mulimulaba, talibeekweka. Bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, munaawuliranga eddoboozi lye eribava emabega nga ligamba nti: “Lino lye kkubo, lye muba mutambuliramu.” Olwo mulizikiriza ebifaananyi ebyole ebibikkiddwako ffeeza, n'ebifaananyi ebiweese ebya zaabu, ne mubyeggyako ne mubisuula ng'ebintu ebitali birongoofu, nga mugamba nti: “Mugende butadda!” Olwo buli lwe munaasiganga ensigo zammwe, Mukama anaatonnyesanga enkuba, zikule, abawe okukungula ebirime ebigimu era eby'ekyengera ekingi. N'amagana gammwe ganaaliiranga mu malundiro amagazi. Era ente zammwe n'endogoyi ze mulimisa mu nnimiro, zinaalyanga birimu omunnyo nga bimaze na kuwewebwa ne mutaba bisusunku. Ebigo by'abalabe bammwe bwe birigwa era ne battibwa bangi, amazzi mangi amalungi galikulukuta nga gava mu nsozi empanvu, ne mu busozi obugulumivu. Ku lunaku Mukama lw'alisibirako ebinuubule n'ebiwundu by'abantu be n'abawonya obulumi bwabwe, omwezi gulyaka nga njuba, n'ekitangaala ky'enjuba kiryeyongera emirundi musanvu: eky'omu lunaku olumu, kibe ng'eky'ennaku omusanvu. Obuyinza bwa Mukama n'ekitiibwa kye birengererwa wala, omuliro n'omukka ne biraga obusungu bwe obwokya. Ebigambo by'ayogera biba muliro ogwaka. Akulembezaamu kibuyaga w'omukka gwe gw'assa, ali ng'omugga ogwanjaala amazzi ne gakoma mu bulago, n'ayerawo buli ggwanga ly'alumbye n'alizikiririza wamu n'entegeka zaalyo eziwabya. Naye mmwe muliyimba oluyimba, ng'oluyimbibwa mu kiro ky'embaga entukuvu. Muliba basanyufu ng'abo abatambulira ku luyimba lw'endere, nga bambuka Olusozi lwa Mukama, Olwazi Yisirayeli mwe yeewogoma. Mukama aliwuliza bonna eddoboozi lye eryekitiibwa, era aliraga amaanyi g'obusungu bwe. Walibaawo ennimi ez'omuliro ezookya buli kye zisanga ebimyanso by'omu bire n'okubwatuka ne kibuyaga ne nkuba omuli omuzira. Abassiriya balitya bwe baliwulira eddoboozi lya Mukama ng'ababonereza n'amaanyi ag'obusungu bwe. Mukama aliba abakuba n'emiggo okubabonereza, nga bo abantu be bacacanca na nnyimba ku bitaasa n'ennanga. Mukama yennyini ye alirwanyisa abalabe abo Abassiriya, ng'akozesa ebyokulwanyisa ebitiisa. Ettambiro eddene Tofeti lyategekebwa kuva dda. Lya kyoto ekiwanvu ekinene nga mulimu n'enku nnyingi. Mwe mulyokerwa kabaka w'Assiriya. Mukama alifuuwa omukka oguli ng'obuganga bw'ebibiriiti, ne gukikoleezaako omuliro. Zibasanze abo abagenda e Misiri okunoonyaayo obuyambi, nga beesigayo embalaasi awamu n'amagaali, kubanga waliyo mangi era nga n'abaserikale abeebagala embalaasi balina amaanyi mangi, ne bateesiga Mukama Omutuukirivu wa Yisirayeli kumusaba abayambe, wadde okumwebuuzaako! Amanyi bulungi, ky'akola. Ye ye yaleeta akabi era takyusa ky'agambye; wabula abonereza abakola ebibi, era n'abo ababawagira okubikola. Abamisiri bantu buntu sso si Katonda. N'embalaasi zaabwe zirina omubiri, sso si mwoyo mwereere. Mukama bw'aligolola omukono gwe, abayambi balyesittala, n'abayambibwa ne bagwa, bonna wamu ne bazikirizibwa. Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ng'empologoma bw'ewulugumira ku nsolo yaayo gy'eyizze, n'etetiisibwa abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba ne bwe baboggola ne baleekaana, bwe ntyo nange Mukama Nnannyinimagye bwe ndikka okulwanira ku Lusozi Siyooni, ku ntikko yaalwo. Ennyonyi nga bw'ebwama ku kisu okutaasa obwana bwayo, nange Mukama Nnannyinimagye bwe nnaakuumanga Yerusaalemu ne nkitaliza ne nkiwonya. “Mmwe Abayisirayeli, mukyuke mudde gye ndi, Nze gwe mwajeemera ennyo bwe mutyo. Ekiseera kijja kutuuka mwenna musuule eri ebifaananyi bye musinza, ebya ffeeza n'ebya zaabu bye mwekolera, ebibaleetera okwonoona. Olwo Abassiriya balittirwa mu lutalo naye nga tebattibwa bantu. Balittibwa baggweewo. Abassiriya abo balidduka olutalo, n'abavubuka baabwe balifuulibwa abaddu. Kabaka waabwe alidduka ng'atidde, n'abakungu be balitya nnyo ne balekawo bbendera yaabwe.” Mukama asinzibwa mu Siyooni n'ayokerwa ebitambiro mu Yerusaalemu, bw'atyo bw'agamba. Ekiseera kirituuka, ne wabaawo kabaka alifugisa obwenkanya, n'abakungu be ne bagoberera amazima. Buli omu ku bo aliba ng'ekifo eky'ekiddukiro eky'okwewogomamu empewo n'okuwoneramu kibuyaga. Baliba ng'emigga gy'amazzi mu nsi enkalu ey'eddungu. Baliba ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu kitundu ky'ensi ekikaze. Amaaso gaabwe n'amatu gaabwe galiba maggule, bamanye ebiruma abantu. Baliggwaamu obutali bugumiikiriza, ne bakola ebiraga bwe balumirwa abalala. Era n'ababadde banaanaagira balisobola okwogera obulungi. Omusiru aliba takyayitibwa nti muntu wa kitiibwa, wadde n'oyo omulyake okuyitibwa omugabi. Omusiru ayogera bya busiru, era ateesa kukola bibi. By'akola ne by'ayogera biba bivuma Mukama. Ye tawa mmere bayala, n'abalumibwa ennyonta, tabafunira kye banaanywa. Omulyake muntu mubi, era ne by'akola si birungi: ateesa kuzikiriza baavu ng'akozesa obulimba, ne bwe baba nga bye basaba bibasaanidde. Naye ow'omutima omugabi alowooza ku kukola birungi, era mu byo mw'anywerera. Mmwe abakazi abataliiko kye mweraliikirira, nammwe abawala abateefiirayo, mwenna mujje, mutege amatu, muwulirize bye ŋŋamba. Mmwe abakazi, kaakano temuliiko kye mufaayo, naye mu bbanga lya mwaka nga gumu mulisoberwa ne mutya, ng'emizabbibu ku olwo gye mukungula, tewali. Mukankane mmwe abakazi abatalina kye mufaayo. Munakuwale mmwe, abataliiko kye mweraliikirira. Mweyambulemu engoye zammwe, mwesibe ebikutiya mu biwato okulaga ennaku yammwe. Mwekube mu bifuba nga mulaga okunakuwala, olw'ennimiro ennungi n'emizabbibu emigimu ebisaanyiziddwawo. Ensi y'abantu bange ya kumeramu maggwa wamu ne katazzamiti. Mukaabire amayumba n'ekibuga omwasanyukiranga abantu. N'olubiri lulyabulirwa. Ekibuga ekyali kikubyeko abantu, kirifuuka kifulukwa. Olusozi n'eminaala ebirengererwako biriba matongo ennaku zonna, omuligitira entulege, era omulundirwa amagana. Ekiseera kirituuka Katonda n'atuyiwako Mwoyo we okuva waggulu, eddungu ne lifuuka ennimiro eŋŋimu, obugimu bw'ennimiro eŋŋimu ne buba nga bwa kibira. Buli wantu mu ggwanga, walibaawo obwenkanya n'okukolera ku mazima. N'ekiriva mu kubaawo obwenkanya, walibaawo emirembe, obutebenkevu n'obwesige ennaku zonna. Abantu ba Mukama balibeera mirembe mu nsi yaabwe, batebenkere mu maka gaabwe, ne mu bifo mwe bawummulira. Naye omuzira gulitonnya ne gukuba ekibira ekyo ne kigwa, era n'ekibuga ne kisuulirwa ddala wansi Nga muliba n'omukisa mmwe abasiga ku mbalama z'emigga, ne muba n'amalundiro wonna gye muliisiza ente n'endogoyi. Zibasanze mmwe abanyaga sso nga temunyagibwanga, era abalyamu bannammwe enkwe nga temuliibwangamu nkwe. Bwe mulimala okunyaga, nammwe ne mulyoka munyagibwa. Era bwe mulikomya okulyamu enkwe nammwe ne babalyamu enkwe. Ayi Mukama tukwatirwe ekisa kubanga twesize ggwe. Tukuumenga buli lukya ne mu kiseera ky'okubonaabona. Bw'osituka n'otulwanirira, amawanga gasaasaana, ne gadduka oluyoogaano lw'olutalo. Ebintu byago birigwibwako ne bifuulibwa omunyago, ng'obuwuka bwe bukuŋŋaanya kye busanga kyefiiridde, era nga n'enzige bwe zigwa ku bye zisanga mu nnimiro. Mukama atenderezebwe, kubanga ye afuga buli kintu. Alijjuza mu Siyooni obwenkanya n'amazima, era mu biseera byammwe alireetawo obutebenkevu, n'ataasanga abantu be, era n'abawanga amagezi n'okumanya. Obugagga bwabwe obukulu buli mu kutya Mukama. Mulabe, abazira baabwe bakaabira bweru; ababaka abatumiddwa okuteesa wabeewo emirembe, bakaaba nnyo amaziga. Ezo enguudo temukyayitika. Abaziyitamu baggwaawo, endagaano zimenyeddwa, ebibuga binyoomeddwa, tewali assibwamu kitiibwa. Ensi tekyalimwa, erekeddwa awo. Ebibira bya Lebanooni biwotose. Ekiwonvu Saroni ekigimu, kaakano kiri nga ddungu. Mu Basani ne ku Lusozi Karumeeli emiti giwaatudde. Mukama agamba amawanga nti: “Kaakano nja kusituka, ndage bwe nnina obuyinza n'amaanyi. Mutegeka ebitajja kubayamba, mukola ebitajja kubagasa. Omukka gwammwe gwe mussa, muliro gwennyini ogulibookya. Muliba ng'ebiyinjayinja bye bookya ne bafunamu cooka; muliba ng'amaggwa agatemeddwa ne gabengeyera mu muliro. Mmwe abali okumpi, nammwe abali ewala, muwulire bye nkoze, mukkirize nga nnina obuyinza.” Aboonoonyi abali mu Siyooni abatassaamu Katonda kitiibwa bakankana nga batidde. Kaakano bagamba nti: “Ennamula ya Mukama eri ng'omuliro ogwokera ddala ennaku zonna. Ani ku ffe ayinza okulama mu muliro oguli ng'ogwo?” Omuntu akola ebituufu era ayogera eby'amazima; anyoomera ddala amagoba agava mu kunyigiriza abalala; eyeesammulira ddala enguzi, ateetaba mu mboozi za kutemula bantu; era atatunuulira bitasaana, oyo ye aliba awagulumivu. Ekifo kye eky'okwerindiramu kiribeera kyekusifu ekigumu ddala ng'olwazi. Aliba n'emmere gy'alya era n'amazzi ag'okunywa. Muliraba kabaka afugira mu kitiibwa ensi ekoma ewala mu bunene bwayo. Mulifumiitiriza ku kutya kwe mwabanga nakwo. Abagereka omusolo n'abakessi be mwatyanga, mulisanyuka okwebuuza gye badda. Abagwira abeepansi abaali boogera olulimi lwe mutayinza kutegeera, muliba temukyabalaba. Mutunuulire Siyooni ekibuga ky'Embaga zaffe. Mulabe Yerusaalemu bwe kiri ekitebenkevu; kye kifo ekibeerekamu. Kiriba nga weema gye batajjulula ng'enkondo zaayo nnywevu tezisimbulwa ennaku zonna, n'emiguwa gyayo tegikutuka. Mukama alitulagirayo ekitiibwa kye. Tulibeera mu kifo eky'ensulo n'emigga emigazi omutaayitenga maato na mmeeri eby'abalabe. Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye ye atuteekera amateeka, Mukama ye Kabaka waffe era ye mulokozi waffe. Emiguwa gyabwe egisiba tegikyasobola kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe. Tegikyayinza kuwanika ttanga. Ebintu byonna eby'abalabe birifuuka munyago gwaffe omunene, n'abalema balyenyagira. Tewaliba n'omu ku batuuze b'omu nsi yaffe aligamba nti alwadde. Abantu abalibeera eyo balisonyiyibwa ebibi byabwe. Musembere kumpi mmwe abantu ab'amawanga gonna, mutege amatu gammwe muwulire. Ensi n'ebigirimu byonna, bitegereze, biwulirize. Mukama asunguwalidde amawanga gonna; alina ekiruyi ku magye gaago gonna, era agawaddeyo gattibwe, gazikirizibwe gonna. Abantu abanattibwa tebajja kuziikibwa, ba kulekebwa awo bavunde, emirambo gyabwe gikyume n'ensozi zikulukute omusaayi gwabwe. Enjuba n'omwezi n'emmunyeenye biriwanuka ku ggulu byedomole, n'eggulu lirizingibwako ng'omuzingo gw'empapula. Olwo ebiririko byonna, birikunkumuka ne bigwa ng'ebikoola bwe byengerera ne biva ku muzabbibu, oba ku muti omutiini. Mukama gy'ali mu ggulu, ategese ekitala kye kikke ku Edomu, kitte bonna b'akolimidde era b'asalidde ogw'okuzikirizibwa. Ob 1-14; Mal 1:2-5 Ekitala kya Mukama kirivulubana omusaayi n'amasavu eby'abantu, nga bwe kyandivulubanye omusaayi n'amasavu eby'endiga n'embuzi ento, n'eby'ensigo z'endiga ennume ezimutambirirwa, kubanga Mukama alina okutambira e Bozura n'okutta abantu abangi mu nsi ya Edomu. Abantu balittibwa wamu n'embogo n'ente ennume wamu n'endaawo, ensi yaabwe ennyikire omusaayi, n'enfuufu yeetabule n'amasavu. Kubanga waliwo olunaku Mukama kw'aliwoolera eggwanga: omwaka mw'alisasuliramu ebyo abalabe bye baakola Siyooni. Emigga gya Edomu girijjula ebyokya ng'olunyata. Ettaka lyayo liribikkibwako amanda agakoledde omuliro. Emisana n'ekiro teriizikirenga, linaanyookanga omukka ennaku zonna. Ensi eyo erizika emirembe n'emirembe era teeyitibwengamu. Mu yo, kimbala ne nnamunnungu bye birifuuka nnyinimu; ne nnamuŋŋoona n'ebiwuugulu bye binaagibeerangamu. Mukama aligiteekamu okutabukatabuka era aligifuula etekyalimu mugaso. Eriba tekyalimu kabaka. Abakulembeze baayo nabo baliba tebakyaliwo. Amayumba gaayo galimeramu amaggwa; n'ebigo byayo ebigumu bimeremu emyeramannyo n'amatovu, era binaabeerangamu bibe na mmaaya. Ensolo enkambwe ez'omu ddungu zinaasisinkaniranga eyo n'emisege, era n'emizimu ginaayitiŋŋaniranga eyo. N'ensolo muyitakiro enejjanga omwo, ne yeenoonyeza ekiwummulo. Eyo ebiwuugulu gye birikola ebisu byabyo ne bibiika, ne bimaamira, ne byalulirayo era ebito ne bikulira eyo. Ne bikamunye binaakuŋŋaanirangayo ebisajja okusisinkana ebikazi. Munoonye mu kitabo kya Mukama, musomemu mulabe nga tekulibula na kimu ku bitonde ebyo, era tewaliba kisajja kitalina kinnaakyo ekikazi, kubanga Mukama ye yalagira bibeere bwe bityo, era Mwoyo we y'abikuŋŋaanya. Mukama ye abigabanyizaamu ensi eyo, n'abisimbira empaanyi ez'ebitundu byabyo. Ensi eyo eriba yaabyo ennaku zonna binaagibeerangamu ennaku zonna. Eddungu n'ensi enkalu birisanyuka Eddungu lirimulisa ebimuli ng'eby'ejjirikiti. Eddungu liriyimba, ne lireekaana olw'essanyu. Lirirabika bulungi nga lisanyusa, ng'ensozi za Lebanooni. Liriba ggimu ng'ennimiro ez'e Karumeeli ne Saroni. Bonna baliraba ekitiibwa kya Mukama, baliraba amaanyi n'obuyinza ebya Katonda waffe. Munyweze emikono egitalina maanyi, mugumye amaviivi agajugumira. Mugambe abo abaterebuse nti: “Mugume, temutya. Mulabe, Katonda wammwe ajja okubataasa, n'okubonereza abalabe bammwe.” Olwo amaaso ga bamuzibe galizibuka, n'amatu ga bakiggala galigguka. Olwo awenyera alibuuka ng'ennangaazi ne kasiru aliyimba, kubanga emigga gy'amazzi girikulukutira mu ddungu. Omusenyu ogwokya mu ddungu gulifuuka ekiyanja, n'ensi enkalu erakasidde erijjamu ensulo z'amazzi. Ekifo ebibe mwe byagalamiranga, kirimeramu omuddo, n'essaalu n'ebitoogo. Walitemwayo oluguudo, lube ekkubo eriyitibwamu. Luliyitibwa “Kkubo Ttukuvu.” Teririyitibwamu batali balongoofu. Abalitambuliramu, wadde nga basiru, tebaliriwabiramu. Tewalibaayo mpologoma. N'ensolo enkavvuzi teriyita mu kkubo eryo, naye abo Mukama b'anunudde be baliritambuliramu. Aba Mukama abaguliddwa balikomawo e Siyooni nga bayimba. Baliba mu ssanyu ennaku zonna. Balisanyuka ne bajaguza, era okunakuwala n'okusinda, kuliggweerawo ddala. Awo olwatuuka, mu mwaka ogw'ekkumi n'ena nga Heezeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Sennakeribu kabaka wa Assiriya n'alumba ebibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo ebigumu, n'abiwangula. Awo kabaka wa Assiriya oyo n'alagira omukungu we omukulu, ave e Lakisi ng'alina eggye eddene, agende e Yerusaalemu eri Kabaka Heezeekiya. Omukungu oyo bwe yatuukayo, n'agumba mu luguudo ku mabbali g'omukutu gw'ekidiba eky'engulu, awali ekifo ky'omwozi w'engoye. Awo abakungu basatu Abayudaaya, Eliyakimu mutabani wa Hilukiya eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi mu lubiri, ne Yoowa, mutabani wa Asafu, eyali omukuumi w'ebiwandiiko, ne bajja okumusisinkana. Omukungu oyo Omussiriya n'abagamba nti: “Kaakano mugambe Heezeekiya nti: ‘Kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya akubuuza nti kiki kye weesiga? Okwogera obwogezi kwe kunadda mu kifo ky'amagezi n'amaanyi ag'okulwana olutalo? Ani kale gwe weesiga n'okutuuka okunjeemera? Laba Misiri gwe weesiga lwe lumuli olwatifu, olufumita ebibatu by'oyo alwesimbaggirizaako ng'omuggo. Bw'atyo kabaka wa Misiri bw'ali eri bonna abamwesiga.’ “Naye bw'oŋŋamba nti: ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye wuuyo Heezeekiya gwe yaggyako ebifo bye bamusinzizaamu, era ne zaalutaari ze, Heezeekiya oyo n'agamba abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari eno yokka.’ Kale kaakano ka mbasoomoze ku lwa mukama wange kabaka wa Assiriya: nja kukuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe bw'onooyinza okuzuulayo abazeebagala. Ggwe atasobola na kwaŋŋanga wadde omu ku bakungu asembayo obunafu mu ggye lya mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi! Era kaakano olowooza nga nnumbye ensi eno okugizikiriza nga Mukama si ye annyamba? Mukama yennyini ye yaŋŋamba nti: ‘Lumba ensi eyo ogizikirize.’ ” Awo Eliyakimu ne Sebuna, ne Yoowa, ne bagamba omukungu Omussiriya nti: “Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi Olwaramayika, kubanga tulumanyi, naye toyogera naffe mu lwaffe Olwebureeyi ng'abantu abali ku kisenge bawulira.” Kyokka omukungu Omussiriya n'addamu nti: “Mulowooza nga mukama wange antumye kubuulira mukama wammwe, nammwe mwekka ebigambo bino? Antumye kubuulira n'abasajja abo abali ku kigo ky'ekibuga, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe, n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.” Awo omukungu oyo n'ayimirira n'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olwebureeyi nti: “Muwulire kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya ky'agamba. Kabaka oyo abalabula nti: ‘Heezeekiya aleme kubalimbalimba kubanga tayinza kubawonya. Era aleme kubasendasenda kwesiga Mukama, ng'agamba nti Mukama ajja kubawonya, n'ekibuga kino tekiiweebweyo mu mikono gya kabaka wa Assiriya.’ Temuwuliriza Heezeekiya, kubanga kabaka wa Assiriya agamba nti: ‘Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi. Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye n'eby'emitiini gye, era munaanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe, okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi erimu eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu, ensi erimu emigaati, n'ennimiro z'emizabbibu.’ Mwegendereze, Heezeekiya aleme kubaguyaaguya ng'agamba nti Mukama ajja kubawonya. Waliwo lubaale n'omu mu balubaale b'amawanga, eyali asobodde okuwonya ensi ye, n'agiggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya? Bali ludda wa balubaale ba Hamati ne Arupaadi? Bali ludda wa balubaale b'e Sefarivayimu? Balubaale ba Samariya baakiwonya ne bakiggya mu mikono gyange? Baani ku balubaale bonna ab'ensi ezo, abaali bawonyezza ensi yaabwe okugiggya mu mikono gyange, Mukama alyoke asobole okuwonya Yerusaalemu okukiggya mu mikono gyange?” Naye ne basirika, ne batamuddamu kigambo, kubanga kabaka yali alagidde nti: “Temubaako kye mumuddamu.” Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya era eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoowa mutabani wa Asafu, era eyali omukuumi w'ebiwandiiko ebitongole, ne bajja eri Heezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne bamubuulira ebigambo omukungu wa Assiriya by'ayogedde. Awo olwatuuka, Kabaka Heezeekiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'ayambala ebikutiya, n'ayingira mu Ssinzizo. N'atuma Eliyakimu eyali alabirira olubiri lwa kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, n'abamu ku bakabona abakulu, nga bambadde ebikutiya, ne bagenda eri Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi. Ne bamugamba nti: “Heezeekiya agamba nti: ‘Olunaku luno, lunaku lwa kubonaabona: tubonerezeddwa, era tuswaziddwa. Tuli ng'omukazi atuusizza okuzaala, kyokka nga talina maanyi ga kuzaala. Kabaka wa Assiriya atumye omukungu we omukulu, okujerega Katonda Nnannyinibulamu. Oboolyawo Mukama, Katonda wo, anassaayo omwoyo ku bigambo byonna omukungu oyo by'ayogedde, n'amukangavvula olw'ebigambo ebyo, Ye Mukama, Katonda wo by'awulidde. Kale sabira abantu baffe abakyasigaddewo.’ ” Awo abakungu ba Kabaka Heezeekiya bwe baatuusa obubaka bwe eri Yisaaya, Yisaaya n'abagamba nti: “Mugende mugambe mukama wammwe nti Mukama agamba nti: ‘Totya bigambo by'owulidde, nga banjerega. Laba, nja kusindika omwoyo mu ye, bw'anaawulira olugambo, addeyo mu nsi ye, era nja kumuleetera okuttirwayo.’ ” Awo omukungu oyo Omussiriya n'awulira nga kabaka w'ewaabwe avudde e Lakisi, era ng'alwanyisa ab'omu Kibuga Libuna, n'agenda gy'ali. Kabaka wa Assiriya bwe baamubuulira nti: “Tiraka kabaka wa Etiyopiya wuuli asitudde eggye okukulwanyisa,” n'addamu okutumira Heezeekiya ababaka ng'agamba nti: “Mugambe Heezeekiya, kabaka wa Buyudaaya nti: ‘Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'agamba nti Yerusaalemu tekirigabulwa mu mikono gya kabaka wa Assiriya. Ndowooza wawulira bakabaka b'e Assiriya kye baakola ensi zonna, ze baasalawo okuzikiririza ddala. Ggwe onoowona? Bajjajjange baazikiriza ebibuga Gozani, ne Harani, ne Rezefu, ne batta Abeedeni abaali e Talasaari. Waliwo ku balubaale baabwe eyasobola okubawonya? Bakabaka bali ludda wa ab'omu bibuga Hamati ne Arupaadi, ne Sefarivayimu, wadde ow'e Hera n'ow'e Yivva?’ ” Awo Heezeekiya n'aggya ebbaluwa ku babaka, n'agisoma. N'ayambuka mu Ssinzizo, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama. Ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, atuula ku bakerubi, Ggwe wekka Ggwe Katonda. Ggwe wekka, Ggwe ofuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe wakola eggulu n'ensi. Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire. Tunula, ayi Mukama, olabe. Wulira ebigambo ebyo byonna Sennakeribu by'aweerezza okukujerega, Ggwe Katonda Nnannyinibulamu. Kyo kituufu, ayi Mukama, bakabaka ba Assiriya baazikiriza amawanga mangi, ensi zaago ne bazifuula matongo. Baayokya balubaale baago, bo ddala abatali Katonda, wabula ebifaananyi eby'emiti n'eby'amayinja, abantu bye baakola n'emikono gyabwe, kyebaava babazikiriza. Kale nno kaakano, ayi Mukama, Katonda waffe, ggwe tuwonye, otuggye mu mikono gya kabaka wa Assiriya, ab'amawanga gonna ku nsi balyoke bamanye nga Ggwe wekka, ayi Mukama, Ggwe Katonda.” Awo Yisaaya mutabani wa Amozi n'atumira Heezeekiya ng'agamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nga bw'onneegayiridde ku bikwata ku Sennakeribu kabaka wa Assiriya, kino Nze Mukama kye ŋŋamba ku ye nti: Ekibuga Siyooni kikunyoomye ggwe Sennakeribu, era kikusekeredde! Ekibuga Yerusaalemu kikukongodde! Olowooza ani gw'ojereze, gw'ovvodde? Ani gw'oboggoledde era gw'oziimudde? Ye Nze, Omutuukirivu wa Yisirayeli. Otumye ababaka bo okunjerega Nze Afugabyonna, nga weewaana nga bwe wakozesa amagaali go n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti watuukira ddala ku lusozi olukomererayo, mu kibira ekisingayo okuba ekikwafu. Weetenze bwe wasima enzizi, n'onywa amazzi, era nti ebigere by'abaserikale bo byakaza emigga gyonna egy'e Misiri. “ ‘Tewakiwulirako nti Nze nategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa obuyinza, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu okubifuula entuumu z'ebisasiro. Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula. “ ‘Naye mmanyi byonna ebikufaako, ne by'okola era ne gy'ogenda. Era mmanyi ne bw'ondalukiddeko. Mmaze okuwulira eddalu lyo, n'okwekulumbaza kwo. Kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja.’ ” Awo Yisaaya n'agamba Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero akakulaga nga bye ŋŋambye bijja kutuukirira: mu mwaka guno ne mu mwaka ogujja, mujja kulya mmere ya kyemeza. Naye mu mwaka oguddako, mulisiga emmere yammwe ne mugikungula. Mulisimba ennimiro z'emizabbibu, ne mulya ebibala byamu. Abo abaliwonawo mu Buyudaaya, balyanya ng'ebimera ebisimba emirandira gyabyo wansi mu ttaka, ne bibala ebibala waggulu. Wajja kubaawo abawonawo mu Yerusaalemu ne ku Lusozi Siyooni. Mukama Nnannyinimagye amaliridde ekyo okukituukiriza. “N'olwekyo bino Mukama by'ayogera ku kabaka wa Assiriya: ‘Tajja kuyingira mu kibuga kino, wadde okulasaayo akasaale. Tajja kukirumba na ngabo, wadde okutuuma entuumu z'ettaka okukyetooloola. Mu kkubo mwe yayita ng'ajja, era mw'aliddirayo, nga tayingidde mu kibuga kino. Nze Mukama, njogedde. Nja kutaasa ekibuga kino, nkiwonye, olw'ekitiibwa kyange, n'olw'ebyo bye nasuubiza omuweereza wange Dawudi.’ ” Awo ekiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abassiriya abaserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Enkeera ku makya, abo bonna nga bafu bajjo! Awo Sennakeribu kabaka wa Assiriya, ne yeemulula, n'agenda, n'addayo mu Kibuga Nineeve, n'abeera eyo. Awo lumu bwe yali mu ssabo ng'asinza lubaale we Nisirooki, batabani be Adurammeleki ne Sarezeeri ne bamutemula, ne baddukira mu nsi y'e Ararati, mutabani we Esaraddoni n'amusikira ku bwakabaka. Awo mu biseera ebyo, Heezeekiya n'alwala nnyo kumpi kufa. Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi, n'agendayo okumulaba, n'amugamba nti: “Mukama akugamba nti: ‘Teekateeka eby'omu maka go, kubanga ogenda kufa, tojja kulama.’ ” Awo Heezeekiya n'akyuka n'atunula ku kisenge, ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, jjukira bwe mbadde omwesigwa mu maaso go, nga nkugondera n'omutima gwange gwonna, era nga nfuba bulijjo okutuukiriza by'osiima.” Awo Mukama n'agamba Yisaaya nti: “Ddayo ogambe Heezeekiya nti: ‘Mukama, Katonda wa Dawudi jjajjaawo, agamba nti: Mpulidde ky'osabye, era ndabye amaziga go. Kale nja kwongera ku bulamu bwo emyaka kkumi n'etaano. Era ndikuwonya ggwe n'ekibuga kino Yerusaalemu, ne nkuggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya, era ndirwanirira ekibuga kino.’ ” Yisaaya era n'agamba Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero Mukama k'akuwa okukakasa ky'asuubizza: ekisiikirize ekiri ku ssaawa ya Ahazi, ekikolera ku njuba nga bw'egenda, ajja kukizza emabega ebbanga lya madaala kkumi.” Awo enjuba n'eddayo emabega ebbanga lya madaala kkumi, ku madaala g'essaawa ge yali emaze okukkirira. Luno lwe luyimba, Heezeekiya, kabaka wa Buyudaaya lwe yawandiika ng'amaze okuwona obulwadde bwe: “Nali ŋŋamba nti ŋŋenda kufiira mu myaka egyawakati egy'obulamu bwange, nzigyibweko egikyasigaddeyo. Nali ŋŋamba nti olwo nkomye okulaba Mukama mu nsi y'abalamu, siriddayo na kulaba bantu abagyeyagaliramu. Obulamu bwange buvuddewo, era bunzigyiddwako ng'eweema y'omusumba. Obulamu bwange buzingiddwako ng'olugoye ku kyalaani ky'omutunzi. Okuva ku makya okuzibya obudde, nzigweramu ddala amaanyi. Nsula nsinda okukeesa obudde, ng'aliibwa empologoma emeketa amagumba gange gonna. Emisana n'ekiro kyonna Katonda ali ng'ansaanyaawo! Nabeeranga awo ne nsinda ng'ekinyonyi. Amaaso ne ganfuuyirira nga ntunuulira eyo waggulu. Ayi Mukama, mpuubadde! Ggwe jjangu onnyambe! Nali sirina bigambo biddamu akiragidde, ng'era yennyini ye akikoze. Emyaka gyange gyonna natambulanga kasoobo nga kiva mu kwennyamira. Ayi Mukama mu ebyo abantu mwe baggya obulamu, era mu ebyo byonna nange mwe nzigya obulamu. Ayi Mukama mponya, mbe omulamu. Ddala kyangasa okunakuwala. Naye Ggwe, olw'okunjagala, omponyezza omugo gw'entaana, kubanga onsonyiye ebibi byange byonna. Emagombe tewali ayinza kukwebaza tewali ayinza kukutendereza. Abafu baba tebakyayinza kusuubira mu Ggwe omwesigwa. Abalamu be bakutendereza, nga kaakano nze bwe nkutendereza. Bakitaabwe b'abaana, babategeeza bw'oli omwesigwa. Omponyezza, ayi Mukama. Kale tunaakuyimbiranga mu bulamu bwaffe bwonna nga bwe tukuba n'ennanga mu Ssinzizo lyo, ayi Mukama.” Era Yisaaya yali alagidde baleete ebibala by'omutiini ebisekule, babiteeke ku jjute, Heezeekiya awone. Era Heezeekiya yali abuuzizza nti: “Kabonero ki akalaga nga ndyambuka mu Ssinzizo?” Mu biseera ebyo Merodaki Baladani, kabaka wa Babilooniya, era mutabani wa Baladani, n'awulira nga Heezeekiya bwe yali alwadde, era nga bwe yali awonye. N'amuwandiikirayo ebbaluwa, n'agimuweereza wamu n'ekirabo. Heezeekiya n'asanyukira nnyo abaabireeta, n'abalaga ebyobugagga bwe byonna mu nnyumba ye ey'eggwanika: ffeeza ne zaabu, n'ebyakaloosa, n'omuzigo ogw'omuwendo ennyo, n'ennyumba mw'atereka ebyokulwanyisa bye, ne byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu lubiri lwe, wadde mu bwakabaka bwe bwonna ky'ataabalaga. Awo Yisaaya omulanzi n'ajja eri Kabaka Heezeekiya, n'amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, era bavudde wa okujja gy'oli?” Heezeekiya n'addamu nti: “Bavudde mu nsi ya wala okujja gye ndi. Bavudde Babilooniya.” Era n'amubuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Heezeekiya n'addamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye. Tewali kintu na kimu ku byobugagga bwange kye sibalaze.” Awo Yisaaya n'agamba Heezeekiya nti: “Wulira Mukama Nnannyinimagye ky'agamba: ‘Manya ng'ekiseera kijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo, n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuuka kati, bitwalibwe e Babilooniya. Tewaliba na kimu kirisigala.’ Bw'atyo Mukama bw'agamba. ‘N'abamu ku b'ezzadde lyo abasibukira ddala mu ggwe, balitwalibwa ne balaayibwa, baweerezenga mu lubiri lwa kabaka wa Babilooniya.’ ” Mu ekyo Heezeekiya n'ategeeramu nti walibaawo emirembe n'obutebenkevu mu kiseera ky'obulamu bwe. N'olwekyo n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde, kirungi.” “Mugumye abantu bange, ddala mubagumye.” Bw'atyo bw'ayogera Katonda wammwe. “Mwogere ebizzaamu ab'omu Yerusaalemu amaanyi. Mubagambe nti okubonaabona kwabwe kaakano kuwedde, ebibi byabwe bisonyiyiddwa. Nze Mukama mbawadde ekibonerezo ekimala, nga mbalanga ebibi byabwe.” Eddoboozi ery'omwanguka ligamba nti: “Mulongooseze Mukama ekkubo mu lukoola, mutereereze Katonda waffe oluguudo mu ddungu. Buli kiwonvu kijjuzibwe. Buli lusozi na buli kasozi biseeteezebwe, ebikyamu bigololwe, n'ebifo ebitali bisende, bitereezebwe. Olwo ekitiibwa kya Mukama kiriragibwa, era abantu bonna balikiraba, kubanga Mukama yennyini ye ayogedde.” Awo ddoboozi ne ligamba nti: “Langirira!” Nze ne mbuuza nti: “Kiki kye mba nnangirira?” Ne liddamu nti: “Langirira nti abantu bonna bali nga muddo, n'okunyirira kwabwe kwonna kuli nga kimuli kya mu ttale. Omuddo gukala, n'ekimuli kiyongobera Mukama bw'asindika embuyaga n'ebifuuwako. Ddala abantu bali nga muddo: nabo tebawangaala. Weewaawo omuddo gukala n'ekimuli kiyongobera; naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerawo ennaku zonna.” Ggwe abuulira Siyooni amawulire amalungi, linnya waggulu ku lusozi oluwanvu. Ggwe abuulira Yerusaalemu amawulire amalungi, yimusa eddoboozi, oyogeze maanyi. Liyimuse, totya. Gamba ebibuga bya Buyudaaya, nti: “Katonda wammwe wuuno!” Ddala Mukama Afugabyonna wuuno ajja n'amaanyi, n'obuyinza bw'afugisa. Wuuno ali n'ebirabo, era n'empeera by'aligaba. Aliisa endiga ze ng'omusumba bw'aliisa. Ento azikuŋŋaanya, n'azireetera mu mikono gye, n'aziwambaatira mu kifuba kye. N'enzadde eziyonsa, azirunda na bwegendereza. Ani yali apimye obungi bw'embatu z'ayinza okusena mu nnyanja, oba eyapima eggulu n'oluta? Ani yali atadde enfuufu y'oku nsi ku minzaani epimibwe, oba ensozi n'obusozi bipimibwe mu minzaani? Ani yali awabudde Mwoyo wa Mukama, oba eyali amuwadde amagezi n'amuyigiriza? Katonda yali yeebuuzizza ku ani, gw'asaba amuwe amagezi? Ani yali amuyigirizza, n'amulaga bw'aba asala ensonga? Ani yali amunnyonnyodde amanye era ategeere ebintu nga bwe bikolebwa? Ku Mukama amawanga gali ng'ettondo mu nsuwa y'amazzi; gali ng'olufufugge oluli ku minzaani. Laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo. Ebibira by'e Lebanooni, byonna tebivaamu nku ziyinza kumala Mukama; n'ensolo zaamu, tezimala okuba ebiweebwayo ebyokebwa. Amawanga gonna si kantu mu maaso ge, gali nga birerya byereere. Kale ani gwe mugeraageranyaako Katonda? Oba kiki kye mulimufaananya? Ekifaananyi ekyole omukozi akiyiiya; n'oyo aweesa akibikkako zaabu, era akiweeseza emikuufu gya ffeeza. Omwavu atayinza ebyo, alondawo muti ogutavunda; anoonya mukozi ow'amagezi asseewo ekifaananyi ekyole ekitagenda kunyeenyezebwa. Abange, temumanyi? Temukiwulirangako? Temwabuulirwa kuva lubereberye? Mwali temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi? Katonda ye wuuyo atuula waggulu w'ensi enneekulungirivu. Abantu abagiriko basirikitu: batono bali nga buseenene. Atimba eggulu ng'olutimbe, era alibamba ng'eweema ey'okubeeramu. Afufuggaza era atoowaza abafuzi n'abafuula abatalina bwe bali. Baba ng'obumera obwakasimbibwa, obutannasimba mirandira wala wansi mu ttaka. Mukama olusindika embuyaga, ebufuuwako ne buwotoka. Bwe wajja kibuyaga ow'amaanyi, ng'abwerawo ng'ebisusunku. Yennyini Omutuukirivu agamba nti: “Muyinza kungeraageranya n'ani? Mazima tewali annenkana.” Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe. Ani yatonda ebyo ebiriyo? Ye oyo aduumira biveeyo ng'eggye, byonna n'abituuma amannya. Olw'obukulu bw'amaanyi ge, n'olw'obuyinza bwe obungi, tewali na kimu ku byo kibulako. Kale bazzukulu ba Yakobo, ŋŋamba mmwe Abayisirayeli, muyinza mutya okwemulugunya nti Mukama tabalumirwa, era nti ne bwe munyigirizibwa Katonda wammwe tafaayo? Temukimanyi? Era temukiwulirangako? Mukama ye Katonda ow'olubeerera. Ensi yonna gy'efayenkana, ye yagitonda. Taggwaamu maanyi, takoowa, amagezi ge tegategeerekeka. Abatendewereddwa, abawa amaanyi; n'abatakyeyinza nnyini, abazzaamu endasi. Abavubuka nabo bakoowa, ne bayenjebuka; n'abasajja abeekiwago, baggwaamu endasi ne bagwa wansi. Naye abo abeesiga Mukama amaanyi agaabwe, galidda buggya. Balibuuka mu bbanga n'ebiwaawaatiro ng'empungu. Balidduka embiro, ne batakoowa. Balitambula, ne batayenjebuka. Katonda agamba nti: “Musirike mu maaso gange mmwe ebizinga, muwulirize kye ŋŋamba. Amawanga gaddemu amaanyi, gasembere kumpi okuwoza. Tukuŋŋaane wamu okuwozesa omusango. “Ani yayita omuntu oyo okumuggya ebuvanjuba n'agenda ng'awangula buli w'atuuka wonna? Amugabula amawanga agawangule, afufuggaze bakabaka. Abasaanyaawo n'ekitala, aleka abafudde bangi ng'enfuufu. Obusaale bwe bubasaasaanya, ne baba ng'ebisusunku ebikuŋŋunsibwa embuyaga. Abawondera n'atambula mirembe, ng'ayita mu kkubo ly'atayitangamu. Ani akkiriza ebyo byonna bibeewo, eyabitegeka okuva olubereberye? Ye Nze Mukama ow'olubereberye, era ye Nze enkomerero ya byonna. “Abatuuze b'omu bizinga n'ab'omu nsi eziri ewala baalaba bye nkoze ne batya, ne beekuŋŋaanya, ne bajja Buli omu n'ayamba munne era n'amugamba nti: ‘Guma!’ Omubazzi w'ekifaananyi kye basinza agumya omuweesi wa zaabu. Oyo akuba ennyondo okuttaanya, n'agumya akomereramu emisumaali nti: ‘Kye tukoze kye kyo, kirungi!’ Ne bakikomerera n'enninga kireme kusagaasagana. “Naye ggwe, Eggwanga lya Yisirayeli, omuweereza wange, muzzukulu wa Yakobo gwe neeroboza, ggwe zzadde lya Aburahamu mukwano gwange. Nakuggya ku nkomerero y'ensi, ne nkuyita okuva ku nsonda zaayo, ne nkugamba nti: ‘Ggwe muweereza wange!’ Nakweroboza era sikuboolanga. Totya, kubanga Nze, ndi wamu naawe. Teweeraliikirira, kubanga Nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi, era nnaakuyambanga. Ddala nnaakuwaniriranga n'omukono gwange ogwa ddyo nga nkozesa obwenkanya. “Kale abo bonna abakusunguwalidde, balikwatibwa ensonyi era baliswazibwa. N'abo abakulwanyisa balimalibwawo ne bazikirizibwa. Olibanoonya, naye tolibazuula. Abo abakwesimbamu ne beefuula abalabe bo balisaanyizibwawo, ne baba ng'abatabangawo. Kubanga Nze Mukama, Katonda wo, Nze nkuwa amaanyi, era nkugamba nti: ‘Totya, Nze nnaakuyambanga.’ ” Mukama Omununuzi wo era Omutuukirivu wa Yisirayeli agamba nti: “Totya, Yisirayeli, ggwe omutono ng'olusiriŋŋanyi. Nze nja kukuyambanga. Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula, era ekikyali ekiggya, ekyogi, era ekirina amannyo. Oliwuula ensozi n'ozaasaayasa, n'obusozi n'obufuula enfuufu. Olibiwewa, empewo n'ebifuumuula, embuyaga ez'akazimu ne zibisaasaanya. Olwo olisanyukira mu Nze, Mukama. Olinneenyumiririzaamu, Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli. “Abantu bange abanaku abatalina kantu, bwe balinoonya amazzi ne gababula, emimiro ne gibakala olw'ennyonta, Nze Mukama ndiwulira kye basaba. Nze Katonda wa Yisirayeli siribalekerera. Ndizibukula emigga okuva mu bifo ebigulumivu, era nditeekawo enzizi mu biwonvu. Ndifuula eddungu ekiyanja ky'amazzi, n'ettaka ekkalu ndirifuula ensulo ezikulukuta. Ndimeza emivule mu ddungu n'emiti egya kasiya, n'emimwanyi, n'emizayiti. Mu ttaka ekkalu, ndimezaamu emisizi, n'emiyovu, ne nnamukago, nga giri wamu. Olwo abantu baliraba ne bamanya era balirowoolereza ne bategeerera ddala nga Nze Mukama, Nze nkoze kino, era nga Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli, Nze nkitaddewo.” Mukama, Kabaka wa Yakobo, agamba nti: “Mmwe balubaale b'amawanga mwanjule ensonga zammwe. Muleete ezisingira ddala okuba ez'amaanyi. Mujje mutubuulire ebiribaawo, tumanye we biribeererawo. Era mwogere ebyabaawo, munnyonnyole amakulu gaabyo, tubirowoozeeko era tumanye ekinaabivaamu. Oba mu tubuulire ebiri eyo gye bujja. Mwanjule ebiribaawo oluvannyuma, tulyoke tukakase nti ddala muli balubaale. Mubeeko ekirungi kye mukola oba akabi ke muleeta, mutujjuze okutya n'okweraliikirira. Mmwe mwennyini temuli kantu, ne bye mukola tebiriimu kantu. Alondawo okubasinza, aba kyenyinyalwa. “Nalonda omusajja ava ebukiikakkono, era wuuyo atuuse. Ava ebuvanjuba, ng'akoowoola erinnya lyange. Alirinnyirira abafuzi ng'ettaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba. Ani ku mmwe eyalanga edda nti kino kirituukirira, tulyoke tumanye nti yali mutuufu? Ku mmwe tewali yakyogerako. Tewali muntu yawulira kigambo na kimu kye mwayogera. Nze Mukama, Nze nasooka okukibuulira Siyooni, era ne ntuma ababaka, okubuulira Yerusaalemu amawulire amalungi nti: ‘Laba, baabo, baabo, abantu bo bakomawo!’ Bwe ntunula mu balubaale, sirabamu alimu kantu. Era mu bo temuli muwi wa magezi gwe mbuuza kibuuzo, n'anziramu. Balubaale bonna abo, tebalina mugaso. Tebaliiko kye basobola kukola. Ebifaananyi byabwe ebiweese, mpewo era temuli makulu.” Mukama agamba nti: “Omuweereza wange wuuno gwe mpanirira. Omulondemu wange, gwe neeyagaliramu. Namujjuzaamu Mwoyo wange, alyoke aleete obwenkanya mu mawanga. Talireekaana era taliyimusa ddoboozi lye, wadde okuliwuliza mu nguudo. Olumuli olwatiseyatise talirumenya, n'olutambi oluzimeera taliruzikiza, wabula alireetera bonna obwenkanya obwa nnamaddala. Taliggwaamu ssuubi, wadde okuterebuka. Aliteekawo obwenkanya mu nsi, era ab'omu nsi ez'ewala, balindirira n'essanyu by'ayigiriza.” Mukama Katonda ye yatonda eggulu n'alibamba. Ye yayanjuluza ensi n'ebigirimu byonna. Abantu abagibeeramu era abagitambuliramu, ye yabateekamu omukka n'omwoyo ogw'obulamu. Kaakano Mukama oyo, agamba omuweereza we nti: “Nze Mukama, nakuyita okuleetera abantu obwenkanya. Nakukwata ku mukono, era ne nkukuuma. Ndiyita mu ggwe, okukola endagaano n'abantu bonna, era ndiyita mu ggwe okuleetera amawanga ekitangaala. Olizibula amaaso ga bamuzibe. Oliggya abasibe mu kkomera, n'owa eddembe abo abasibiddwa mu nzikiza. “Nze Mukama. Eryo lye linnya lyange, era ekitiibwa kyange sirikigabira mulala, wadde ettendo lyange okuliwa ebifaananyi ebyole. Ebintu bye nalanga edda, kaakano bituukiridde. Kati nja kubabuulira ebiggya, nga tebinnatandika kubaawo.” Muyimbire Mukama oluyimba oluggya. Ensi yonna eyimbe ettendo lye. Mumutendereze mmwe abatambula eŋŋendo ku nnyanja. Mumutendereze mmwe ebitonde ebisangibwa mu nnyanja. Muyimbe mmwe ensi eziri ewala, n'abazibeeramu mwenna. Eddungu n'ebibuga byonna bisitulire wamu amaloboozi n'ebyalo by'Abakedari. Abatuuze b'omu Seela bayimbe basaakaanye, nga basinziira ku ntikko z'ensozi. Abo abali mu nsi ez'ewala batendereze Mukama, era bamusseemu ekitiibwa. Mukama avaayo okulwana ng'omuzira ow'amaanyi. Alaga obukambwe ng'omuserikale. Akuba enduulu ey'olutalo, erimu n'okuleekaana. Alaga obuyinza bwe obulwanyisa omulabe. Mukama agamba nti: “Mmaze ebbanga liweze nga ŋŋumiikirizza, nsirise. Naye kaakano nja kuleekaana ng'omukazi alumwa okuzaala. Nja kuwejjawejja, nsinde. Nja kuzikiriza ensozi n'obusozi, nkaze n'omuddo gwonna oguliko. Ebiwonvu by'emigga ndibifuula ebizinga, ne nkaliza ebidiba by'amazzi. “Ndikulembera bamuzibe, ne mbayisa mu makubo ge batamanyi. Ekizikiza ndikifuula ekitangaala mu maaso gaabwe, ne mbaseeteereza ebifo mwe bayita. Ebyo ndibibakolera, era siribaabulira. Abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebikole nti: ‘Mmwe Katonda waffe’. Balitoowazibwa ne bazzibwa emabega, ne baswazibwa nnyo.” Mukama agamba nti: “Muwulire mmwe bakiggala, mutunule mmwe bamuzibe musobole okulaba. Ani muzibe okusinga omuweereza wange? Oba ani kiggala okusinga omubaka wange gwe ntuma? Ddala ani muzibe ng'oyo eyatabagana nange? Ani muzibe ng'omuweereza wange Nze Mukama? Ggwe Yisirayeli, olaba bingi, naye teweetegereza. Olina amatu agawulira, naye towulira.” Mukama olw'okwagala okulokola abantu, yasiima okugulumiza Amateeka ge, abantu bagassengamu ekitiibwa. Naye abantu be bano babbibwa ne banyagibwa, bonna bategebwa mu bunnya, ne bakwekebwa mu makomera. Bayiggibwa ne wataba abawonya, banyagibwa ne wabula abakomyawo. Ani ku mmwe anaawuliriza ekyo? Ani anaategereza n'awulira eby'omu kiseera ekigenda okujja? Ani yawaayo bazzukulu ba Yakobo okunyagibwa? Ani yagabula Yisirayeli mu mikono gy'abanyazi? Yali Mukama yennyini, gwe twanyiiza nga tukola ebibi. Abantu baagaana okukola by'ayagala, ne bajeemera amateeka ge. Kyeyava abasunguwalira n'abakwatirwa ekiruyi, n'abasindikira entalo. Obusungu bwe ne bwaka ng'omuliro mu Yisirayeli yonna. Naye ne tutamanya biriwo, era ne tutabaako kye tuyiga! Naye kaakano ggwe Yisirayeli Mukama eyakutonda, agamba nti: “Totya, kubanga nakununula Nakuyita erinnya lyo, oli wange. Bw'oliba oyita mu mazzi amangi ndiba wamu naawe, n'emigga gy'oyitamu tegirikusaanyaawo. Ne bw'oliyita mu muliro, nagwo tegulikwokya. Tolituusibwako kabi, kubanga Nze Mukama Katonda wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli, Omulokozi wo. Nawaayo Misiri okuba omusingo ogw'okununula ggwe, ne mpaayo Kuusi ne Seeba mu kifo kyo. Ndiwaayo abantu n'amawanga okuwonya obulamu bwo, kubanga ku Nze oli wa muwendo nnyo era waakitiibwa, era nkwagala nnyo. “Totya, kubanga Nze ndi wamu naawe. Ndikuŋŋaanya abantu bo, ne mbaleeta okubaggya ebuvanjuba n'ebugwanjuba. Ndigamba obukiikakkono okubata, n'obukiikaddyo obutabalemera; abantu bange abasajja n'abakazi balekebwe badde mu nsi yaabwe okuva mu nsi ez'ewala ne mu buli kasonda ak'ensi. Buli omu ku bo namuwa erinnya, wange, namutondera kumpa kitiibwa. Ddala ekyo kye namubumbira ne mussaawo.” Mukama agamba nti: “Muleete abantu bange bawozesebwe Balina amaaso, naye bamuzibe; balina amatu, naye bakiggala. Muyite ab'amawanga gonna, abantu bakuŋŋaane wamu. Ani mu balubaale baabwe ayinza okutubuulira ebyo ebigenda okubaawo, n'atubuulira n'ebyo ebyabaawo edda? Baleete abajulizi baabwe okubakakasa nti batuufu. Boogere nti bye baawulira, ddala byali bya mazima. “Mmwe Abayisirayeli, muli bajulizi bange era mmwe Muweereza wange gwe neeroboza, mulyoke mummanye era munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo Katonda nzekka. Tewabangawo Katonda mulala yansooka kubaawo, era tewaliba anziririra. “Nze nzekka, Nze Mukama era Nze nzekka, Nze Mulokozi. Nayogera ebiribaawo era ne mbayamba, ne nkirangirira nga tewali lubaale yali akikoze. Mmwe bajulizi bange. Nze Mukama njogedde. Nze Katonda, era bulijjo, bwe ntyo bwe nnaabeeranga. Tewali ayinza kweggya mu buyinza bwange. Kye mba nkoze tewali ayinza kukijjulula.” Mukama Omununuzi wammwe, era Omutuukirivu wa Yisirayeli agamba nti: “Okubawonya mmwe ndisindika eggye okulumba Babilooni. Ndimenya ebisiba emiryango gy'ekibuga, era n'okuleekaana kw'Abakaludaaya okubadde okw'essanyu, ndikufuula kutema miranga. Nze Mukama, Omutuukirivu wammwe, Omulokozi wa Yisirayeli, era Kabaka wammwe.” Edda Mukama yatema oluguudo mu nnyanja, n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi. Yasaanyaawo eggye eddene ery'abaserikale abalina amagaali n'embalaasi. Baagwa ne bagaŋŋalama obutakyaddayo kuyimukawo, nga bonna bazikidde, ddala bazikidde ng'olutambi lw'ettaala. Mukama oyo agamba nti: “Temutunuulira bya dda, ebyaliwo mu mirembe egiyise. Kati mutunule mulabe: ŋŋenda kukolawo ekiggya, era nakitandiseeko dda. Nja kutema oluguudo mu nkoola, ndeete n'amazzi mu ddungu. N'ensolo ez'omu ttale zinanzisaamu ekitiibwa; ebibe ne bimmaaya bintendereze nga ndeese emigga mu ddungu, okuwa amazzi abantu bange abalondemu. Be bantu bange, Nze Nzennyini be nategeka boolesenga ettendo lyange.” Mukama agamba nti: “Naye mwanneetamwa mmwe, bazzukulu ba Yakobo. Mmwe Abayisirayeli, temwansinza! Temwandeetera ndiga zammwe ez'ebiweebwayo ebyokebwa, wadde okunzisaamu ekitiibwa nga mumpa ebitambiro. Sibakaluubiriranga nga mbasaba ebiweebwayo, era sibakooyanga nga mbapeeka obubaane obw'okunnyookereza. Temwawaayo ssente kungulira bikajjo ebiwoomu, era temwanzikusa na masavu ga nsolo zammwe. Naye mu kifo ky'ebyo, mwantikka mugugu gwa bibi byammwe, mwankooya na nsobi zammwe. Nze Nzennyini, Nze nsonyiwa ebibi byammwe ku lwange, siriddayo kubibavunaana. “Twejjukanye, tukubaganye ensonga. Mwewozeeko mulage nga bwe muli abatuufu. Jjajjammwe eyasooka yayonoona, n'abayigiriza bammwe baakola ebibi, ne bannyiiza. Kyendiva mmalamu ekitiibwa abalabirira Ekifo Ekitukuvu. Bazzukulu ba Yakobo ndibawaayo okuzikirira; ndireka Abayisirayeli okuvumibwa.” Mukama agamba nti: “Kale kaakano muwulire mmwe bazzukulu ba Yakobo omuweereza wange, mmwe Abayisirayeli be neeroboza. Nze Mukama eyabatonda, eyababumba mu lubuto, era alibayamba ŋŋamba nti: Temutya, muli baweereza bange, abantu bange abalondemu be njagala. “Ensi erakasidde ndigiwa amazzi; era ndikulukusa emigga ku ttaka erikaze. Ndifuka Mwoyo wange ku b'ezzadde lyammwe; n'omukisa gwange ndiguwa bazzukulu bammwe. Balikula bulungi ng'omuddo ogumeze awali amazzi, baligimuka ng'ebimera eby'oku mabbali g'omugga. “Walibaawo agamba nti: ‘Ndi wa Mukama.’ Omulala alyetuuma erinnya lya Yakobo, n'omulala aliwandiika ku mukono gwe nti wa Mukama, ne yeebalira mu Bayisirayeli.” Mukama, Kabaka wa Yisirayeli era Omununuzi we, Mukama Nnannyinimagye, agamba nti: “Nze ntandikwa, era Nze nkomerero; era nzekka, Nze Katonda. Teri Katonda mulala, wabula Nze. Kale ani ali nga Nze? Bw'abaayo, akirangirire, akyogere, akiteeke mu maaso gange. Ani okuva edda, eyalangirira ebiribaawo? Kale abuulire abantu n'ebyo ebiribaawo gye bujja. Temutya era temuggwaamu maanyi. Mumanyi ng'okuva edda n'okutuusa kati, mbabuulira ebiribaawo. Era mmwe bajulizi bange. Ate eriyo Katonda omulala okuggyako Nze? Nze nzekka Nze Lwazi omwewogomwa, simanyiiyo mulala.” Abo bonna abakola ebifaananyi ebisinzibwa, temuli kantu. N'ebifaananyi byabwe ebyo ebibeeyagaza, tebiriiko kye bigasa. N'ababisinza, tebalaba, era tebaliiko kye bamanyi, ne kye bakola, kibaswaza. Ani yali akoze lubaale, oba n'aweesa ekifaananyi kya lubaale, n'aba nga tatawaanidde bwereere? Buli alikisinza alikwatibwa ensonyi. Ate nno abakola ebifaananyi ebyo bantu buntu, tebalinaayo kirala. Basaanye bonna baleetebwe, bayimirire wamu, bawozesebwe. Balitya era balikwatibwa wamu ensonyi. Omuweesi ng'aweesa ekifaananyi ekisinzibwa, aleeta ekyuma, n'akifukutira mu manda, n'akikuba n'ennyondo, ng'akozesa omukono gwe ogw'amaanyi. Bw'amala ebyo olwo n'alumwa enjala, n'aggwaamu amaanyi. Bw'atanywa ku mazzi n'ayenjebuka. Ye omubazzi aleega ku muti olukoba lwe olupima, n'agulamba n'ekkalaamu. Agulanda n'eranda, n'agupimisa ekyuma kye ekipima, n'agukolamu ekifaananyi ekirungi nnyini ekifaanana ng'omuntu, n'akiteeka mu ssabo. Ayinza okutema enzo, oba alondawo okutema omuyovu, oba omuvule, mu kibira. Oba ayinza okusimba enkanaga, enkuba bw'etonnya n'egikuza. Oluvannyuma omuntu oyo afunako enku. Atwalako, n'akuma omuliro, n'ayota, n'afumbisa n'emmere. Ekitundu ekisigaddewo n'akikolamu lubaale, n'amusinza; ekifaananyi ekyo ekyole n'akivuunamira. Enku ezimu azikumisa omuliro, endala n'azookesa ennyama n'alya, n'akkuta. Ayota omuliro, n'agamba nti: “Otyo, akaliro kalungi, kambugumizza!” Ekitundu ky'omuti ekifisseewo, n'akifuula lubaale. Ekifaananyi kye ekyole, n'akivuunamira, n'akisinza, n'akiwanjagira ng'agamba nti: “Mponya, kubanga ggwe lubaale wange.” Abantu abo tebamanyi, era tebalowooza. Katonda azibye amaaso gaabwe n'emitima gyabwe, ne batayinza kulaba, wadde okutegeera. Omukozi w'ekifaananyi kya lubaale yeerabira, era tafumiitiriza, wadde okutegeera, asobole okugamba nti: “Ekitundu ky'omuti ogwo nkikumyeko omuliro, ne nfumba emmere ku manda gaakyo, era njokezza ennyama ne ngirya. Ekitundu kyagwo ekifisseewo, ate kye nnaafuula lubaale, nvuunamire ekitundu ky'omuti?” Oyo omuntu aba ng'alya evvu. Aba yeerimba era ng'awabye, nga takyalimu keeyamba kuwonya bulamu bwe, wadde okwebuuza nti: “Ekifaananyi kye nkutte mu mukono gwange ogwa ddyo si kya bulimba bwereere?” Mukama agamba nti: “Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo, kubanga oli muweereza wange, ggwe Yisirayeli. Nakutonda obe muweereza wange. Ggwe Yisirayeli, sirikwerabira. Njezeewo ebibi byo ne bivaawo ng'ekire, n'ebyonoono byo ne biggwaawo ng'olufu. Komawo gye ndi, kubanga nakununula.” Ggwe eggulu, yimba, kubanga Mukama ye akoze ekyo. Muleekaane mmwe ebitundu by'ensi ebyawansi. Mubaguke muyimbe mmwe ensozi; naawe ggwe ekibira, na buli muti oguli mu ggwe; kubanga Mukama yanunula bazzukulu ba Yakobo, era aliraga ekitiibwa kye mu Bayisirayeli. Mukama Omununuzi wo, era eyakubumba mu lubuto lwa nnyoko agamba nti: “Nze Mukama akola byonna. Nze nabamba eggulu obwomu, Nze nayanjuluza ensi, awatali yankwatirako. Nze mmalawo ebyewuunyo ebikolebwa abalanzi ab'obulimba, abalogo ne mbafuula abasiru. Nze mmulungula ebigambo by'abagezi, ne ndaga nti bye bayita eby'amagezi, ddala biba bya busiru. Naye nnyweza ebyogerwa omuweereza wange, ntuukiriza omubaka wange by'alangirira. Ŋŋamba nti Yerusaalemu kiribeeramu abantu, n'ebibuga bya Buyudaaya birizimbibwa buggya. Nze ndagira, ne nkaliza obuziba bw'ennyanja, awamu n'emigga. Nze njogera ku Kuuro nti ye mufuzi gwe ntaddewo, era alituukiriza byonna bye njagala. Nze ndagira Yerusaalemu nti: ‘Zimbibwa buggya,’ n'Essinzizo nti: ‘Emisingi gyo gizimbibwe.’ ” Mukama yalonda Kuuro okuba kabaka, n'amutuma okujeemulula amawanga, n'okuggyako bakabaka obuyinza. Mukama alimuggulirawo emiryango gy'ebibuga ne wataba agiggalawo. Mukama agamba Kuuro oyo nti: “Ndikukulemberamu, ne nseeteeza awatali wasende. Ndimenyaamenya enzigi ez'ekikomo ne nkutula ebizisiba eby'ekyuma. Ndikuwa obugagga obukwekeddwa mu kizikiza mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga Nze, Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Nze nkuyita erinnya lyo. Olw'omuweereza wange Yakobo, Yisirayeli omulondemu wange, nkuyitidde ddala linnya lyo. Nkutuumye erinnya newaakubadde nga ggwe tommanyi. “Nze Mukama nzekka, teri mulala. Nze nzekka Nze Katonda. Ndikuwa amaanyi ge weetaaga, newaakubadde nga ggwe tommanyi. Kino nkikoze, bonna balyoke bamanye okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, nga Nze nzekka, Nze Mukama, tewali mulala. Nze nteekawo ekitangaala era Nze ntonda ekizikiza. Nze ndeeta emirembe, Nze ntondawo akabi. Nze Mukama, Nze nkola ebyo byonna. Ggwe ggulu, tonnyesa obutuufu, buwanuke mu bire ng'enkuba, ensi eyasame ebufune, eryoke ebeemu eddembe awamu n'obwenkanya. Nze Mukama, Nze ntondawo ekyo.” Zimusanze oyo awakanya Eyamutonda kubanga aba ng'ekibumbe ekiwakanya akibumbye. Ebbumba liyinza okubuuza alibumba nti: “Obumba ki?” Oba ekyo ky'okoze kiyinza okukugamba nti: “Tokozesezza magezi?” Zimusanze oyo agamba kitaawe ne nnyina nti “Mwanzaalira ki?” Mukama Omutuukirivu wa Yisirayeli, era Omutonzi we, agamba nti: “Munambuuza ebigenda okujja, n'ebifa ku baana bange, oba okundagira eky'okukola? Nze natonda ensi era n'abantu abagibeeramu. Nakozesa buyinza bwange, ne mmamba eggulu, era Nze nfuga ebyo ebiririko byonna. Ne Kuuro Nze mmulagidde asituke, ajje aluŋŋamye ebintu. Nditereeza amakubo gonna g'ayitamu. Alizimba buggya ekibuga kyange Yerusaalemu, era aliteera ddala abantu bange abaanyagibwa. Alikikola nga taguliriddwa, wadde okuweebwa empeera.” Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde. Mukama agamba Yisirayeli nti: “Ebyobugagga bya Misiri, n'ebyamaguzi bya Kuusi, birifuuka bibyo. N'Abaseeba, abantu abawanvu, balikwewa, ne baba babo. Balikugoberera nga basibiddwa enjegere. Balijja w'oli, ne bakuvuunamira, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Mazima Katonda ali mu ggwe, era Ye yekka, ye Katonda, tewali mulala.’ ” Ayi Katonda wa Yisirayeli, ggwe Omulokozi, mazima oli Katonda eyeekweka! Abakola ebifaananyi bye basinza bonna awamu we bafabenkana balikwatibwa ensonyi, ne baswazibwa. Naye Mukama ye aliyamba Yisirayeli n'obuyambi obutaggwaawo. Mmwe Abayisirayeli, temuukwatibwenga nsonyi, temuuswazibwenga emirembe n'emirembe. Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda. Ye yakola ensi n'agibumba. Yagikola n'aginyweza. Teyagitonda kuba njereere, yagibumba kubeeramu bantu. Ye wuuyo agamba nti: “Nze Mukama, era tewali mulala. Soogereranga mu kyama, mu nsonda y'ensi ey'ekizikiza. Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti: ‘Munnoonyeze bwereere.’ Nze Mukama, njogera mazima, mbuulira abantu ebituufu.” Mukama agamba nti: “Mwekuŋŋaanye mujje. Musembere we munaawoleza, mmwe abawonyeewo ku b'amawanga amalala. Abantu abatambula nga basitudde ebifaananyi eby'emiti ebyole, ne beegayirira lubaale atayinza kulokola, abo tebalina magezi. Mwanjule empoza yammwe, n'abawolereza bammwe beegeyeze wamu. Ani yalanga okuva edda n'edda ekyo ekiribaawo? Si Nze Mukama? Tewali Katonda mulala okuggyako Nze, Omutuukirivu era Omulokozi. Tewali mulala, wabula Nze. “Mutunuulire Nze mulokolebwe, mmwe ab'omu nsonda zonna ez'ensi, kubanga Nze Katonda, era tewali mulala. Nsuubizza nga ndayira, Nze Nzennyini njogedde ekigambo kye sirijjulula nti Nze Omutuukirivu buli vviivi lirinfukaamirira, buli lulimi lulirayira Nze. “Baligamba nti mu Nze Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi. Naye bonna abankyawa, balikwatibwa ensonyi ne baswala. Mu Nze Mukama, ezzadde lyonna erya Yisirayeli mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza. “Balubaale b'e Babilooni kati bukomye obwabwe! Beeli avuunama, Neebo akutamya omutwe wansi. Batikkiddwa ku ndogoyi ne ku nte. Ebifaananyi byabwe ebisinzibwa bifuuse migugu ku migongo gy'ensolo ezikooye. Ebifaananyi ebyo bikutama, ne bivuunamira wamu. Tebiyinza kuyamba baabikola, naye nabyo byennyini bitwalibwa nga bisibe. “Muwulire kye ŋŋamba, mmwe ab'ennyumba ya Yakobo, mwenna abasigaddewo ku Bayisirayeli, be nasitulanga ne mpeeka okuva lwe mwazaalibwa. Ne bwe mulikula ne mukaddiwa, ne bwe mulimera envi, nnaabalabiriranga. Nze nabatonda. Nnaabakuumanga, era nnaabataasanga. “Ani gwe mulinfaananya ne mumunnenkanya, oba gwe mulingeraageranya naye nti anfaanana? Abantu kye babeeredde bafukumula ensawo zaabwe ne baggyamu zaabu era ne bapima ffeeza mu minzaani ne basasula omuweesi wa zaabu, n'aweesa lubaale mu zaabu oyo ne bavuunamira lubaale oyo, ddala ne bamusinza. Bamukongojja ku bibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye mw'atayinza kweggya. Bwe wabaawo ajja n'amukaabirira, lubaale oyo tayinza kumwanukula, wadde okumuwonya mu nnaku ye. “Mujjukire ekyo, mube bawulize, era mukirowoozeeko bajeemu mmwe. Mujjukire ebyabaawo edda n'edda mumanye nga Nze Katonda nzekka, tewali mulala, era tewali anfaanana. Okuva mu kutandika, nnanga nga bukyali ebiribaawo ku nkomerero. Okuviira ddala mu kiseera eky'edda, ndaga ebitannaba na kukolebwa, nga nkakasa nti bye ntegeka tebirirema kutuukirira, era nti ndikola byonna bye njagala okukola. Mpita omusajja okuva mu nsi ey'ewala. Aliwanuka okuva ebuvanjuba ng'ali ng'ekinyonyi ekiyizzi, n'ajja akola kye njagala. Mazima nkyogedde era ndikituukiriza, n'ekyo kye nateesa, ndikikola. “Muwulirize kye ŋŋamba mmwe ab'emitima emikakanyavu, abalowooza nti obuwanguzi buli wala. Nsembeza olunaku olw'obuwanguzi, terujja kuba wala. Sirirwawo kulokola bantu bange. Ndiwonya Siyooni abalabe, ne mba waakitiibwa mu Yisirayeli.” Mukama agamba nti: “Wanuka ku ntebe y'obwakabaka, otuule wansi mu nfuufu, ggwe Babilooni, ekibuga ky'Abakaludaaya! Wabeerako ng'omuwala embeerera: ekibuga ekitawangulwa. Naye abakulaba tebaliddamu kukutenda bunyirivu. Dda ku mmengo, kwata nseeso, ose obuwunga. Weggyeeko ekiremba ku maaso fungiza engoye zo, osomoke emigga. Abantu balikulaba ng'oli bukunya. Balikulaba ng'otoowaziddwa, ng'oswadde. Ndiwoolera eggwanga, era siribaako gwe ndiddiramu.” Omununuzi waffe erinnya lye ye Mukama Nnannyinimagye, Omutuukirivu wa Yisirayeli. Oyo agamba nti: “Tuula ng'osirise, weewunikire mu kizikiza, ggwe ekibuga ky'Abakaludaaya! Kubanga oliba tokyayitibwa Nnaabakyala w'Obwakabaka obungi. Nasunguwalira abantu bange ne mbayisa ng'abatakyali bange, ne mbawaayo mu mikono gyo, n'otobasaasira n'akatono, n'abakadde n'obassaako ekikoligo kyo ekizito ennyo. Wagamba nti: ‘Ndiba Nnaabakyala ennaku zonna,’ bino n'otobissaako mwoyo, era n'oteebuuza gye biriggweera. “Kale kaakano wulira kino ggwe omwagazi w'amasanyu, atuula n'osalako n'ogamba nti: ‘Nze ndiwo, teri mulala wabula nze. Nze siriba nnamwandu, era sirimanya kya kufiirwa baana.’ Naye mbagirawo, bino byombi birikujjira ku lunaku lumu: okufiirwa abaana n'obwannamwandu, wadde obulogo bwo nga bungi butya n'obusawo bwo bwa maanyi nnyo. “Weesigula ebibi by'okola era n'olowooza nti tewali akulaba. Amagezi go n'okumanya kwo bikuwubisa, n'ogamba nti: ‘Nze ndiwo, teri mulala, wabula nze!’ Naye olituukibwako akabi nga tomanyi gye kavudde. Oligwibwako emitawaana gy'otoyinza kuziyiza, era olituuka okuzikirira, nga tomanyiridde. Kale nno kuuma obusawo bwo n'obulogo bwo obungi, bwe wateganamu okuva mu buto bwo, mpozzi wandifunamu omugaso. Oboolyawo bwandikuyamba okutiisa abalabe bo. Abakuwa amagezi b'olina abangi, bakutawaanyiza bwereere! Abeetegereza ebiri ku ggulu, abasimba emmunyeenye amaaso, n'abalagula ebiribaawo nga balabira ku kuboneka kw'omwezi, kale beesimbewo bakuyambe, bakubuulire ebirikutuukako. “Abo nno, baliba ng'ebisusunku, era omuliro gulibookya. Tebaliwona kibabu kya nnimi zaagwo. Teguliba nga gwa manda, gwe batuula awo ne boota. Bwe batyo bwe baliba abo be watawaananga nabo, be wasuubulagananga nabo okuva mu buto bwo. Bonna balyekwatira gaabwe, ne wabulawo akuyamba.” Muwulire kino mmwe ab'ennyumba ya Yakobo, abayitibwa Abayisirayeli, era abasibuka mu Yuda, mmwe abalayira erinnya lya Mukama era aboogera ku Katonda wa Yisirayeli, sso nga si mu mazima na mu bwesimbu, ne mweyita ba mu Kibuga Ekitukuvu, abeesiga Katonda wa Yisirayeli, nga Mukama Nnannyinimagye lye linnya lye. Mukama oyo abagamba mmwe nti: “Okuva edda n'edda, nalangirira ebiribaawo. Nze Nzennyini, Nze nabiranga. Nabikola mangu, ne bituukirira. Kubanga namanya bwe muli abakakanyavu. Ensingo yammwe ya binywa bya kyuma, n'ekyenyi kyammwe kya kikomo. Kyennava nnangirira edda ebiribatuukako gye bujja ne mbiranga mubimanye nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti: ‘Ebifaananyi bye tusinza: ebifaananyi ebyo ebyole n'ebiweese, bye biragidde ebintu ebyo bibeewo.’ “Ebyo byonna mwabiwulira, era mwabiraba, byatuukirira. Kale temubikkirizza nti byali bituufu? Okuva kati nja kubabuulira ebiggya ebyali bikyakisiddwa, era bye mutamanyanga. Nnaakabitondawo, si bya dda, era olwaleero lwe musoose okubiwulirako, sikulwa nga mugamba nti mwali mubimanyi. Weewaawo mwali temubiwulirangako, ddala mwali temubimanyanga era nga temubitegeranga matu, kubanga namanya nga temuli beesigwa, era ng'okuva lwe mwazaalibwa, mumanyiddwa bwe muli abajeemu. “Olw'okukuuma ekitiibwa kyange, ndiziyiza obusungu bwange, era ndibagumiikiriza mmwe ne sibazikiriza. Mmwe nabatukuliza mu kubonaabona, nga ffeeza bw'atukulizibwa mu kabiga k'omuliro. Kye nkola, nkikola ku lwange, nkikola lwa bulungi bwange, nneme kuswaza linnya lyange, wadde okuleka ekitiibwa kyange okufunibwa omulala.” Mukama agamba nti: “Muwulirize bye ŋŋamba, mmwe bazzukulu ba Yakobo, Abayisirayeli be nayita. Nze wuuyo asooka era Nze wuuyo ow'enkomerero. Nze Nzennyini, mwene, Nze nateekawo omusingi gw'ensi, era Nze nabamba eggulu, nga nkozesa buyinza bwange. Ensi n'eggulu bwe mbiyita, bijja okunneeyanjulira. “Mukuŋŋaanire wamu mmwe mwenna, muwulire. Mu balubaale bonna, ani yalanga ebyo nga tebinnabaawo? Nze Mukama nnonze omuntu gwe njagala. Oyo alirumba Babilooni n'akikolako nga bwe njagala, n'akuba Abakaludaaya. Nze Nzennyini, Nze nayogera, era Nze namuyita, ne mmulagira agende; era olugendo lwe ne nduwa omukisa. “Musembere we ndi muwulire kino. Okuviira ddala mu kusooka n'okutuusa kati soogereranga mu kyama. Bye njogedde bituusa ekiseera ne bibaawo.” Era kaakano Mukama Afugabyonna antumye era atumye ne Mwoyo we. Mukama Omununuzi wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli, agamba nti: “Nze Mukama, Katonda wo, akuyigiriza eby'okukugasa, era akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu. “Singa nno wawulira ebiragiro byange! Wandibadde n'emirembe egikulukuta ng'omugga, n'obwesimbu bwo bwandibadde bwa maanyi ng'amayengo g'ennyanja. Ab'ezzadde lyo bandibadde bangi ng'omusenyu, abatabalika ng'empeke zaagwo. Era nandirabye nga tebazikirira kuggwaawo.” Mwanguwe muve e Babilooni, mudduke muve mu Bakaludaaya! Mukirangirire buli wantu nga muleekaana olw'essanyu, mukibunyise kituuke ensi yonna gy'ekoma. Mugambe nti: “Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.” Mukama bwe yayisa abantu be mu malungu, tebaalumwa nnyonta. Yabakulukusiza amazzi agaava mu lwazi. Kale yayasa olwazi amazzi ne gafumbukuka omwo. Mukama agamba nti: “Ababi tebaba na mirembe.” Muwulirize kye ŋŋamba, mmwe ebizinga, mutege amatu, mmwe amawanga, gye muli eyo ewala. Mukama yampita nga sinnazaalibwa, yampita erinnya nga nkyali mu lubuto lwa mmange. Yafuula ebigambo byange ekitala eky'obwogi, yankweka mu kisiikirize ky'omukono gwe. Yanfuula akasaale akawagale k'aterese mu nsawo ye. Era yaŋŋamba nti: “Ggwe Yisirayeli, ggwe muweereza wange gwe ndiweerwamu ekitiibwa.” Naye nze ne ŋŋamba nti: “Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa. Kyokka mazima Mukama ye amanyi ebyange, era Katonda wange ye alimpa empeera.” Kaakano Mukama alina ky'agamba. Mukama oyo ye yammumbira mu lubuto lwa mmange n'antegeka okuba omuweereza we, mmukomezeewo ab'ezzadde lya Yakobo: be bantu be Abayisirayeli, abaasaasaanyizibwa. Anfuula waakitiibwa, era ye Katonda wange, ensibuko y'amaanyi gange. Kale Mukama oyo agamba nti: “Ggwe eky'okuba omuweereza wange okuzzaawo ekitiibwa ky'Ebika by'aba Yakobo, n'okukomyawo Abayisirayeli abawonyeewo, tekimala, naye era ndikufuula ekitangaala eri amawanga, nkukozese okununula ensi yonna.” Mukama Omununuzi era Omutuukirivu wa Yisirayeli ayogera n'oyo abantu gwe banyooma, n'amawanga gwe gakyawa, era omuweereza w'abafuzi. Amugamba nti: “Bakabaka balikulaba ne bayimirira okukussaamu ekitiibwa, n'abakungu balikulaba ne bakuvuunamira, kubanga Mukama omwesigwa, era Omutuukirivu wa Yisirayeli ye yakulonda.” Mukama agamba nti: “Nakuwuliriza mu kiseera eky'okusaasiriramu, ne nkuyamba ku lunaku olw'okununulirako. Ndikukuuma ne nkutaasa, era ndiyita mu ggwe okukola endagaano n'abantu bonna. Olibbulula ensi, n'oddamu okugaba ebitundu byayo, ebyalekebwa awo ettayo n'ogamba abasibe nti: ‘Mufulume ekkomera,’ n'abo abali mu kizikiza nti: ‘Mujje mu kitangaala.’ Baliba ng'endiga ezifuna kye zirya ne mu makubo mwe ziyita, era ezirina amalundiro gaazo ku nsozi nnyingi ezeetadde. Tebaalumwenga njala wadde ennyonta. Omusana n'olubugumu tebiibakolenga kabi, kubanga Oyo abakwatirwa ekisa, alibakulembera, n'abatuusa ku nsulo z'amazzi. “Ensozi zange zonna ndizitemamu amakubo, ne nnima enguudo, abantu bange mwe balitambulira. Mulabe, abantu bange abo baliva wala: abamu baliva ebukiikakkono n'ebugwanjuba, n'abamu mu nsi y'e Sinimu.” Yimba, ggwe eggulu era sanyuka, ggwe ensi. Mubaguke muyimbe, mmwe ensozi, kubanga Mukama agumizza abantu be. Alikwatirwa ekisa ababe ababonyaabonyezebwa. Naye Ekibuga Siyooni kigamba nti: “Mukama anjabulidde era Mukama anneerabidde. Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, n'atakwatirwa kisa omwana we gw'azaala? Weewaawo abakazi bayinza okwerabira abaana baabwe naye Nze siikwerabirenga ggwe. Ggwe ekibuga Siyooni laba nkoze ekifaananyi kyo mu bibatu by'emikono gyange, ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo. “Abantu bo abalikuzimba obuggya banguwa okujja; abo abaakuzikiriza ne bakufuula amatongo, balikuvaamu ne bagenda. Yimusa amaaso go otunule ku njuyi zonna, olabe. Abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nze Mukama, nga bwe ndi omulamu, tolirema kubeeyagaliramu ne weenyumiriza ng'omugole ayambadde eby'obuyonjo ebiteŋŋeenya. “Weewaawo ensi yo yali ezise, ng'efuuse matongo, naye kaakano eriba nfunda etegyamu balijja kugibeeramu. Era abo abaaleka bakuzikirizza, balikwesamba ne babeera wala. Abantu bo abaazaalirwa mu buwaŋŋanguse balikugamba nti: ‘Ensi mwe tuli efunze nnyo, tuwe we tunaabeera.’ Olwo n'oyogerera mu mutima gwo, nti: ‘Ani yanzaalira bano bonna? Kubanga nafiirwa abaana, ne nsigalawo bwomu. Nali mu buwaŋŋanguse nga mbungeeta eno n'eri. Kale ani yakuza abaana bano? Ddala, nasigala bwomu, bano baali ludda wa?’ ” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndiwenya ku b'amawanga n'omukono gwange, ne mbateerawo bbendera yange. Balireeta batabani bammwe nga babawambaatidde mu bifuba byabwe, ne bawala bammwe balikongojjerwa ku bibegabega. Bakabaka balibalabirira mmwe nga bakitammwe, ne bannaabakyala baabwe ne babalabirira mmwe nga bannyammwe. Balivuunama mu maaso gammwe, ne babeetoowaliza nnyo, ne bakomba enfuufu eri wansi w'ebigere byammwe. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, era nga buli annindirira okumuyamba, talikwatibwa nsonyi.” Ow'amaanyi oyinza okumuggyako omunyago, oba okuta abawambiddwa omukambwe? Kyokka Mukama agamba nti: “Ekyo kyennyini kye kigenda okubaawo. Ow'amaanyi be yawamba baliggyibwayo, n'abo abaanyagibwa ow'entiisa, baliteebwa. Ndilwanyisa oyo abalwanyisa mmwe era ndinunula abaana bammwe. Abakujoonyesa ggwe Siyooni, ndibaleetera okwetta bokka nga batamidde ettemu n'obusungu. Olwo abantu bonna balimanya nga Nze Mukama, Omulokozi, era Omununuzi wammwe, nga Nze Katonda ow'amaanyi owa Yakobo.” Mukama agamba nti: “Ebbaluwa gye nawandiika okugobera ddala nnyammwe, eruwa? Oba ali ludda wa ammanja, gye nabatunda mmwe mube abaddu? Mwatundibwa lwa bibi byammwe, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe. Bwe najja okubawonya lwaki saasangawo muntu n'omu? Nayita ne wabulawo ampitaba. Omukono gwange gwe mumpi ne gutasobola kubanunula? Oba mbuliddwa amaanyi nga sisobola kuwonya? Mulabe, bwe nkabukira ennyanja, ekala. Emigga ngifuula eddungu, ebyennyanja byamu olw'okubulwa amazzi, ne bifa era ne biwunya. Eggulu nnyinza okuliddugaza, ne liba nga lye nnyambazza ebikutiya okukungubaga.” Mukama Katonda anjigiriza bye nnaayogera okugumya oyo akooye. Anzuukusa buli nkya, n'anzigula amatu okuwulira by'aba agenda okunjigiriza. Mukama Afugabyonna anzigudde amatu ne sijeema kudda nnyuma kumuvaako. Nawaayo amabega gange eri abankuba, n'amatama gange eri abankuunyuula ekirevu. Saakweka maaso gange abo abanswaza ne bampandira amalusu. Naye obujoozi bwabwe sibufaako, kubanga Mukama Afugabyonna ajja kunnyamba. Nneevaamu ne mbugumira, nga mmanyi nti sijja kuswala. Oyo ampolereza ali kumpi. Ani alina ky'anvunaana? Yeesimbewo tuwoze. Anneesimbyemu ye ani? Kale asembere we ndi. Mukama yennyini Afugabyonna wuuno ye antaasa, ate ani alinsalira omusango okunsinga? Bonna balikaddiwa ng'ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje. Buli omu mu mmwe assaamu Mukama ekitiibwa era agondera ebigambo by'omuweereza we, ne bw'atambulira mu kizikiza nga talina kitangaala, yeesige Mukama, era anywerere ku Katonda. Mulabe, mmwe mwenna abakola enkwe okuzikiriza bannammwe, mmwe mulyezikiriza mwekka mu nkwe zammwe. Ekyo Mukama yennyini ye alikituukiriza, ne mufiira mu bulumi. Mukama agamba nti: “Mumpulire mmwe abagoberera eby'obutuukirivu; mmwe abannoonya Nze Mukama. Mulowooze ku lwazi kwe mwatemebwa, n'ekirombe ky'amayinja mwe mwasimibwa. Mulowooze ku Aburahamu ne Saara bajjajjammwe mwe mwasibuka. Bwe nayita Aburahamu, teyalina mwana, kyokka ne mmuwa omukisa ne mmwaliza ezzadde.” “Nja kubudaabuda Siyooni, n'ebifo byakyo byonna ebyayonoonebwa. Ebitundu byakyo ebifuuse eddungu ndibifuula ng'ennimiro y'e Edeni, ng'ennimiro yange yennyini gye nneerimira. Essanyu n'okujaganya bye biribeera eyo, n'okwebaza, n'amaloboozi ag'okutendereza “Muwulirize kye ŋŋamba mmwe bantu bange. Mmwe ab'Eggwanga lyange, muntegere amatu. Nditeekawo amateeka gange gayigirize ab'amawanga gonna obwenkanya. Ndijja mangu ne mbanunula. Ekiseera kyange eky'okuwanguliramu kituuse. Nze Nzennyini Nze ndifuga amawanga, n'ensi ez'ewala zinnindirira okujja ng'essuubi lyazo liri mu Nze. Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi. Eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abagibeeramu bwe balifa bwe batyo. Naye obununuzi bwange bwe ndeeta bunaabeerangawo ennaku zonna, n'obufuzi bwange obw'obwenkanya bunaabanga bwa lubeerera. “Mmwe abamanyi ekituufu era abakuuma amateeka gange ku mutima, muwulirize kye ŋŋamba. Temutyanga kunyoomebwa bantu, era temuterebukanga bwe babavumanga; kubanga balyonooneka ng'ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje oba enkuyege. Naye obununuzi bwange bunaabeerangawo ennaku zonna, n'obuwanguzi bwange bwa kubeerangawo emirembe gyonna.” Situka ayi Mukama, situka otuyambe! Kozesa obuyinza bwo otuwonye. Bukozese nga bwe wabukozesanga mu biseera ebyayita, okuviira ddala mu mirembe egy'edda. Ggwe watemaatemamu ekikulejje Rahabu, n'ofumita ogusota. Ye Ggwe eyakaliza ennyanja, n'ogabanyaamu amazzi gaayo amangi, n'oteerawo abantu bo abanunuliddwa ekkubo okusomokeramu. Kale n'abo, ayi Mukama, b'onunudde, balikomawo e Siyooni nga bajja bayimba olw'essanyu. Balijaguza ne basagambiza, era essanyu lyabwe teririggwaawo; yo ennaku n'okusinda, biriggweerawo ddala. Mukama agamba nti: “Nze Nzennyini, Nze mbabudaabuda mmwe. Kale lwaki otya omuntu obuntu alifa n'aggwaawo ng'omuddo? Weerabidde Mukama Omutonzi wo eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi? Bulijjo ozibya obudde ng'otya obukambwe bw'abakujoonyesa, abateekateeka okukuzikiriza. Kale kaakati obukambwe bwabwe bukyali ludda wa? Oyo eyawambibwa era anyigirizibwa anaatera okuteebwa. Tajja kufa kaakano kukka magombe, era tajjanga kubulwa mmere gy'alya. “Nze Mukama Katonda wo, aleetera ennyanja okusiikuuka amayengo gaayo ne gawuluguma. Mukama Nnannyinimagye lye linnya lyange. Nateeka ebigambo byange mu kamwa ko era ne nkuwanirira mu mukono gwange. Nabamba eggulu, ne nteekawo emisingi gy'ensi, ne ŋŋamba ab'omu Siyooni nti: ‘Mmwe bantu bange.’ ” Sisimuka ggwe Yerusaalemu, zuukuka oyimirire! Wanywa ekikopo eky'okubonaabona Mukama mu busungu bwe kye yakuteeka ku mumwa, n'okinywa n'okyekatankira ne kikuleetera okutagatta. Mu baana bo bonna be wazaala, temuli n'omu wa kukukulembera; mu be weeyolera temuli n'omu wa kukukwata ku mukono. Bino byombi bikuguddeko: ensi yo eyonooneddwa olutalo, abantu bo ne bafa enjala. Ani anaakukubagiza? Ani anaakubudaabuda? Abantu bo bazirise era bagalamidde mu buli kasonda ka nguudo. Bali ng'engabi ekwatiddwa mu kitimba ky'omuyizzi. Bavuunikiddwa obukambwe bwa Mukama, obusungu bwe babuwuliddemu omusera! Kale mmwe ababonaabona ne mutagatta naye nga temunywedde mwenge, Mukama Afugabyonna, era Katonda wammwe abataasa mmwe abantu be, agamba nti: “Mbaggyeeko ekikopo kye nabawa mu busungu bwange. Temukyaddayo kukinywa ne kibaleetera okutagatta. Ekikopo ekyo ndikikwasa abo abaababonyaabonya mmwe, abaabagamba nti: ‘Mweyale wansi tuyite ku mmwe tugende!’ Nammwe ne muteekawo emigongo gyammwe gibe ng'ettaka, n'oluguudo abo abayitawo kwe batambulira.” Situka ggwe Siyooni, situka oddemu okuba ow'amaanyi. Ggwe Yerusaalemu Ekibuga Ekitukuvu, yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, kubanga tokyaddamu kuyingirwamu batalina ddiini, n'abatali balongoofu. Situka Yerusaalemu ove mu nfuufu, ogyekunkumule, olyoke otuule. Weesumulule enjegere ezikuli mu bulago ggwe Ekibuga Siyooni ekyawambibwa. Mukama agamba nti: “Mwatundibwa awatali asasudde ssente, era mulinunulibwa awatali ssente.” Mukama Katonda era agamba nti: “Mu kusooka, abantu bange baagenda okubeerako e Misiri, Abassiriya ne babajoonyesa awatali nsonga. Nze Mukama kyenva ŋŋamba nti: ‘Kale wano kiki kye nnaakola kaakano, nga ndaba abantu bange batwalirwa obwereere? Abo ababafuga beewaana, era olunaku lwonna tebalekaayo kunnyooma. Kale abantu bange, balimmanya. Olwo balimanya nga Nze, ddala Nze Nzennyini, Nze njogedde.’ ” Nga kisanyusa okulaba omubaka ng'afaabiina okuyita mu nsozi okuleeta amawulire amalungi, amawulire agalangirira emirembe, era ag'obulokozi n'obuwanguzi! Omubaka oyo agamba nti: “Katonda wammwe ye afuga.” Abakuumi b'ekibuga kyammwe baleekaana, bayimusa amaloboozi nga bayimbira wamu; kubanga balabira ddala n'amaaso gaabwe Mukama bw'akomawo e Siyooni Mmwe ebifo bya Yerusaalemu ebibadde bifuuse amatongo, nammwe mubaguke muyimbe, kubanga Mukama akubagizza abantu be, anunudde Yerusaalemu. Mukama Katonda waffe alikozesa obuyinza bwe obutuukiridde n'alokola abantu be, ng'ensi yonna yeerolera! Mugende, mugende, muve mu Babilooni. Temukwata ku kintu na kimu ekitali kirongoofu, mmwe abasitula ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Mukama. Mugende nga muli balongoofu. Temulivaayo nga mubuguutana wadde okugenda nga mugwirana; kubanga Mukama alibakulemberamu era ye omu Katonda wa Yisirayeli alibavaako emabega okubakuuma. Mukama agamba nti: “Mulabe, Omuweereza wange, byonna by'akola alibikozesa magezi. Alituusibwa ku bukulu n'ekitiibwa, aligulumizibwa nnyo. Ng'abangi bwe baamwewuunya ng'amaaso ge goonooneddwa okusinga ag'omulala yenna bwe gaali goonooneddwa, ng'afuuse muntu atakyafaananika, bw'atyo bw'alyewuunyisa amawanga amangi: bakabaka balibulwa eky'okwogera ne basamaalirira, kubanga baliraba ne bategeera kye batabuulirwanga era kye batawuliranga.” Abantu baddamu nti: “Ani ayinza okukkiriza bye tuwulidde? Era ani ayinza okukkiriza nti ekyo Mukama ye yakikola? Ono yakulira mu maaso ga Mukama, ng'ekisimbe ekigonvu mu ttaka ekkalu. Yali taliiko bw'afaanana: nga si kunyirira, nti tumutunuleko; nga si bulungi bwa ndabika, nti bumwegombesa. Yanyoomebwa, n'agaanibwa abantu. Yajjula ennaku n'obuyinike, nga tewali ayagala kumutunulako. Bw'atyo bwe yanyoomebwa, ne tutamulabamu ka buntu. “Mazima yeetikka buyinike bwaffe era yasitula nnaku yaffe. Naye ffe twalowooza nti okubonaabona kwe, kyali kibonerezo Katonda ky'amuwadde. Kyokka yateekebwako ebiwundu lwa kusobya kwaffe, yabonyaabonyezebwa lwa bibi byaffe. Yabonerezebwa, ffe tufune emirembe. Emiggo gye yakubibwa, gye gituwa obulamu. Ffe ffenna twawaba ng'endiga, buli omu n'akwata lirye, ekibonerezo ekisaanidde ebibi byaffe, Mukama n'akiteeka ku ye. “Yajoogebwa, kyokka n'akigumira mu bwetoowaze, n'atabaako ky'anyega. Yasirika ng'endiga etwalibwa okuttibwa. Era ng'endiga bw'esirika nga bagisalako ebyoya, naye bw'atyo, teyabaako ky'ayogera. Yaggyibwawo n'atwalibwa n'asalirwa ogw'okufa, ne watabaawo afaayo kusala musango gwe mu bwenkanya. Yattibwa lwa bibi bya bantu bange. Baamuziika wamu n'ababi, newaakubadde yali tazzanga musango, wadde okwogera eky'obukuusa. Kyokka yabalirwa wamu n'abagagga mu kufa kwe.” Mukama agamba nti: “Nasiima okumubonyaabonya n'okumulumya. Nga bw'awaayo obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ebibi, aliraba ku bamusibukamu, n'ayongera ebbanga ly'aliwangaala, era ebyo bye nayagala, birituukiririzibwa mu ye. Aliraba ku ebyo ebiriva mu kubonaabona kwe, era birimusanyusa, n'amanya nga teyabonaabonera bwereere. Omuweereza wange oyo, atuukiriza byonna bye ndagira, alyetikka ekibonerezo ky'ebibi by'abangi, ne mbasonyiwa olw'okubeera ye. Kyendiva mmuwa omugabo awamu n'abeekitiibwa, n'agabana omunyago awamu n'ab'amaanyi; kubanga yawaayo obulamu bwe n'abalirwa wamu n'aboonoonyi. Yetikka ekibi ky'abangi, n'abasabira ekisonyiwo.” Ggwe Yerusaalemu, obadde ng'omukazi atazaalanga ku mwana, naye kaakano yimba olw'essanyu, kubanga ojja kuzaala abaana bangi okusinga omukazi atalekebwangawo bba. Gaziya eweema yo, wanvuya emiguwa gyayo, onyweze enkondo zaayo, kubanga ensalo z'ensi yo zirigaziwa ku buli ludda. Ezzadde lyo liryongezebwa ensi ebaddemu ab'amawanga amalala, era lirijjuza abantu mu bibuga ebyali birekeddwawo ettayo. Totya, kubanga toliddamu kuswazibwa, era tolitoowazibwa. Olyerabira ensonyi ez'obutaba mwesigwa mu buto bwo, n'ennaku y'okulekebwawo nga nnamwandu. Kubanga Omutonzi wo, oyo Mukama Nnannyinimagye, ye balo. Era Omutuukirivu wa Yisirayeli, ayitibwa Katonda w'ensi yonna, ye Mulokozi wo. Oli ng'omukazi eyawasibwa mu buvubuka, eyalekebwawo bba, oba eyagobebwa, n'awulira obuyinike. Naye kaakano Mukama akuyita odde gy'ali, era agamba nti: “Nakulekawo okumala akabanga, naye mu kwagala okungi, nja kukweddiza. Nga ndi mu busungu obungi, nakukuba amabega okumala akaseera; naye kaakano nja kukusaasira n'okusaasira okutaliggwaawo.” Mukama Omununuzi wo, bw'atyo bw'agamba. “Nga bwe nalayira mu biseera bya Noowa nti siriddamu kuleeta mujjuzo gwa mazzi ku nsi, ne leero bwe ntyo bwe ndayira nti sirikusunguwalira, sirikunenya, wadde okukubonereza. Ensozi ziyinza okuvaawo, n'obusozi buyinza okuggwaawo; naye okwagala kwe nkwagalamu, tekulikuvaako; n'emirembe gye nakulagaanya tegiriggyibwawo.” Mukama akukwatirwa ekisa, bw'atyo bw'agamba. Mukama agamba nti: “Ggwe ekibuga ekibonaabona, ekisuukundibwa omuyaga, n'otobaako akubudaabuda, ndikuzimbisa amayinja amalungi, emisingi gyo ngizimbise amayinja ag'omuwendo. Eminaala gyo ndigizimbisa amayinja amatwakaavu, emiryango gyo ngizimbise amayinja agayitibwa kabunkulo; n'ebisenge ebikwetoolodde, ndibikola mu mayinja agasanyusa. “Nze Nzennyini, Nze ndiyigiriza abantu bo. Bye bakola biribagendera bulungi, ne baba n'emirembe mingi. Obwenkanya bulikufuula wa maanyi. Oliwona okunyigirizibwa, era entiisa terisembera w'oli. Abalikulumba, si Nze ndiba mbakkirizza. Buli alikulwanyisa, talirema kugwa. “Nzuuno eyatonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aweesa ebyokulwanyisa; era Nze natonda omuserikale abikozesa okutta. Naye tewaliba byakulwanyisa bye baliweesa okukulwanyisa ebiriba n'omukisa, era buli aliwoza naawe, olimusinga. Nnaataasanga abaweereza bange, era nnaabawanga obuwanguzi.” Mukama, bw'atyo bw'agamba. Mukama agamba nti: “Buli muntu alumwa ennyonta ajje awali amazzi anywe, nammwe abatalina nsimbi mujje mugule emmere mulye. Mujje mugule omwenge n'amata nga temuliiko kye musasula. Lwaki okufulumya ssente ku ebyo ebitali mmere, n'okuteganira ebyo ebitayinza kubakkusa? Muwulirize bulungi bye ŋŋamba mulyenga ebirungi, musanyuke. “Mutege amatu gammwe mujje gye ndi muwulire, mufune obulamu obujjuvu. Nze ndikola nammwe endagaano ey'olubeerera ey'okwagala kwange okunywevu kwe nayagalamu Dawudi. Nayita mu ye okulaga ab'amawanga obuyinza bwange, nga mmufudde omukulembeze era omufuzi w'amawanga ow'oku ntikko. Nammwe muliyita eggwanga lye mwali mutamanyi era nalyo eryali litabamanyi ne liddukira gye muli, ku lwange Mukama, Katonda wammwe, Omutuukirivu wa Yisirayeli, kubanga mbagulumizza mmwe.” Mudde eri Mukama, ng'akyasangika, mumwegayirire, nga bw'akyali okumpi. Omubi alekeyo empisa ze embi, n'omwonoonyi akyuse endowooza ye adde eri Mukama, Mukama anaamukwatirwa ekisa; adde eri Katonda waffe, kubanga wa kisa, era asonyiyira ddala nnyo. Mukama agamba nti: “Ebirowoozo byange, tebiri ng'ebirowoozo byammwe; n'engeri zange, teziri ng'engeri zammwe. Eggulu nga bwe liri waggulu ewala ennyo n'ensi, n'engeri zange bwe ziri bwe zityo ewala ennyo n'engeri zammwe; era n'ebirowoozo byange bwe biri bwe bityo ewala ennyo n'ebirowoozo byammwe. “Ng'enkuba n'omuzira bwe bigwa okuva mu bbanga ne bitaddayo waggulu naye ne bifukirira ettaka, ne bimeza mu lya ebimera, ne bibala ebibala, ne biwa omulimi ensigo ey'okusiga n'emmere ey'okulya, bwe kityo n'ekigambo kye njogera, bwe kinaabanga. Tekiddenga gye ndi nga kyereere, wabula kinaakolanga ebyo bye njagala, ne kituukiriza bye nkitumye okukola. “Muliva mu Babilooni n'essanyu, mulitwalibwa n'emirembe okuvaayo. Ensozi n'obusozi birikoleeza oluyimba, n'emiti girikuba mu ngalo olw'essanyu. Emisambya girimera awabadde emyeramannyo, n'emimwanyi giridda mu kifo ky'amatovu. Ekyo kiriba akabonero ak'olubeerera akalaga nti ekyo, Nze Mukama, Nze nkikoze.” Mukama agamba nti: “Mukolenga eby'obwenkanya era ebituufu, kubanga nnaatera okubanunula, ndage nga bwe ndi omutuukirivu. Ndiwa omukisa abakuuma Sabbaato bulijjo, ne batagikolerako mirimu. Ndiwa omukisa abo abeekuuma ne batakola bibi.” Omugwira eyasenga mu bantu ba Mukama, tagambanga nti: “Ddala Mukama ansosola mu bantu be.” N'omulaawe tagambanga nti: “Nze ndi ng'omuti omukalu!” Kubanga Mukama agamba nti: “Abalaawe abakuuma Sabbaato zange, abalondawo okukola bye nsiima, ne banywerera ku ndagaano yange, abo ndiwa amannya gaabwe okujjukirwanga mu Ssinzizo lyange ne mu bantu bange, ebbanga eggwanvu okusinga lwe bandibadde bazadde abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Tebalyerabirwa.” Abagwira abo abaasenga mu bantu ba Mukama, abamwagala, abamuweereza, abakuuma Sabbaato ze, era abassaayo omwoyo okukuuma endagaano ye, Mukama abagamba nti: “Ndibatuusa ku Lusozi lwange olutukuvu, ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey'okusinzizaamu. Ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebitambiro bye baleese, ndibikkiriza ku alutaari yange, kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga ennyumba ab'amawanga gonna mwe bajja okunsinziza.” Mukama Afugabyonna, era akuŋŋaanya abantu ba Yisirayeli abaawaŋŋangusibwa, agamba nti: “Ndimukuŋŋaanyizaayo n'abalala, ne beeyongera ku babe abaakuŋŋaanyizibwa.” Mukama agamba nti: “Mmwe mwenna ebisolo eby'omu ttale n'eby'omu kibira, mujje mulye! Abakulembeze b'abantu bange, bamuzibe. Bonna tebaliiko kye bamanyi, bonna bali ng'embwa ensirusiru ezitayinza kuboggola. Bonna bagalamira ne baloota, ne badda awo mu kubongoota. Bali ng'embwa ez'omululu, ezitakkuta ennaku zonna. Bonna beemalidde ku byabwe: buli omu ku bo yeenoonyeza bya kwefuniramu magoba. Omu agamba banne nti: ‘Mujje, ka nkimeyo ku mwenge, tunywe, twekamirire ebitamiiza. Olwenkya nalwo lunaaba ng'olwaleero, era n'okulusinga!’ ” Omuntu omulungi afa ne wabulawo akissaako omwoyo. Abantu ab'ekisa baggyibwawo ne wataba akitegeera, ng'ab'ekisa abo bawonyezeddwa akabi akagenda okujja. Abo abaali abalungi mu bulamu bwe bafa, bayingira mu mirembe, ne bawummula we bagalamidde. Naye mmwe abalogo, mmwe abenzi ne bamalaaya, mujje wano musalirwe omusango. Muzannyira ku ani? Ani gwe mwasamiza akamwa ne mwogera ebimusoomoza? Mmwe aboonoonyi era abajjudde obukuusa! Mulina amaddu ag'okusinza ebifaananyi wansi wa buli muti, era muttira abaana bammwe mu biwonvu wansi w'enjatika z'enjazi. Muggyayo amayinja amaweweevu ne mugasinza nga balubaale. Mugafukira ekiweebwayo eky'ebyokunywa era ne mugaleetera ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke. Muyinza okukola ebyo ne nsanyuka? Mwateeka ebitanda byammwe ku nsozi empanvu engulumivu, era eyo gye mwambuka okuwaayo ebitambiro. Mukukulira emabega w'enzigi zammwe ebifaananyi ebyenyinyalwa. Mundeka awo, ne mweyambulira omulala atali nze, ne mulinnya naye ekitanda ekigazi, ne mumusasula okwebaka nammwe, ne mumatiza amaddu gammwe. Mwesiiga omuzigo n'ebyobuwoowo bingi, ne mugenda okusinza lubaale Moleki. Okuzuula balubaale be munaasinza, mutuma ewala ababaka, ne bakkirira n'emagombe. Mufuba ne mutegana okunoonyaayo balubaale abalala, era temuterebuka. Mulowooza ng'ebifaananyi ebyenyinyalwa bibawa amaanyi, n'olwekyo temukoowa. Mukama agamba nti: “Balubaale ki abo be mutya bwe mutyo, Nze ne munnimba era ne munneerabirira ddala? Mulekedde awo okunzisaamu ekitiibwa, olw'okuba nga nasirika busirisi ebbanga lyonna? Muyinza okulowooza nga bye mukola bituufu era birungi, naye ndyerula empisa zammwe, era ebifaananyi ebyo bye mukoze, tebiribagasa mmwe. Bwe mukaaba nga musaba obuyambi, kale ebyo bye mwakuŋŋaanya, bye biba bibawonya. Naye empewo obuwewo eribiggyawo byonna. Kyokka abo abeesiga Nze, ensi be baligibaamu, era be banansinzizanga ku Lusozi Olutukuvu.” Mukama agamba nti: “Mukoleewo ekkubo, mukoleewo ekkubo, mulitereeze. Muggyeewo enkonge mu kkubo ly'abantu bange. “Nze nsukkiridde byonna, era ow'olubeerera, Omutuukirivu. Mbeera mu kifo ekyawaggulu era ekitukuvu. Kyokka era mbeera ne mu bantu abeetoowaze era ababoneredde, ndyoke mbazzeemu omutima n'essuubi. Nawa abantu bange obulamu, era siribavunaana lugenderezo wadde okubasunguwalira emirembe gyonna, kubanga olwo abantu bange bandifudde, ate Nze Nzennyini be nawa obulamu. Nabasunguwalira olw'ebibi byabwe n'olw'omululu gwabwe, ne mbabonereza era ne mbaabulira. Naye ne beeyongera kugenda mu maaso, ne bagugubira mu nneeyisa yaabwe. “Ndabye nga bwe bayisa, naye nja kubawonya. Nja kubakulembera, mbaluŋŋamye, mbudeebude abo abakaaba. Nze Mukama ŋŋamba nti Nze mpa bonna emirembe, abali okumpi n'abali ewala. Nja kuwonya abantu bange. Naye abantu ababi bali ng'ennyanja esiikuuka, eteyinza kuteeka. Amayengo gaayo gasiikuula ebitosi n'ebisasiro. Aboonoonyi tebaba na mirembe.” Katonda wange bw'atyo bw'agamba. Mukama agamba nti: “Kangula eddoboozi, tolikkakkanya. Eddoboozi lyo liyimuse livuge ng'ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, otegeeze ab'ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe. Bansinza buli lunaku ne balaga nti baagala okumanya engeri zange n'okukwata ebiragiro byange. Bansaba okubawa amateeka ag'obwenkanya, era bagamba nti basanyuka okunsinza, Nze Katonda. “Babuuza nti: ‘Lwaki tusiiba, naye ggwe n'otofanayo? Lwaki twebonereza, naye ggwe n'otokissaako mwoyo?’ Nze mbaddamu nti: ‘Mulabe, ku lunaku lwe musiibirako, mwenoonyeza bibasanyusa era munyigiriza abakozi bammwe. Okusiiba kwammwe kubafuula bakambwe, ne muyomba era ne mulwana, ne mukuba ebikonde olw'obusungu.’ “Temulowooza nti munaasiiba mu ngeri ng'eyo, ne muyimusa eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu. Okusiiba kwe njagala bwe kufaanana bwe kutyo? Era olunaku omuntu lwe yeetoowalizaako bwe lubeera bwe lutyo? Okusiiba kwe kukoteka omutwe ng'olumuli bwe lukutama, n'okweyaliirira ebikutiya n'evvu? Ekyo kye muyita okusiiba, era olunaku lwe nsiima? “Okusiiba kwe njagala kwe kuno: muggyeewo enjegere n'ebikoligo ebinyigiriza abantu mu butali bwenkanya; musumulule abasibe abanyigirizibwa mubate bagende. Muggyeewo buli ekinyigiriza abantu. Abayala mubawe ku mmere yammwe, abaavu abagobaganyizibwa mubasembeze mu maka gammwe. Abo abali obwereere mubagabire ebyokwambala, era muleme kugaana kuyamba bantu bannammwe. “Olwo mulyakaayakana ng'emmambya, era muliwonyezebwa mangu. Ebikolwa byammwe ebirungi binaabakulemberangamu, ekitiibwa kyange Nze Mukama, ne kibabugiriza okubakuuma. Olwo bwe munampitanga, Nze Mukama, nnaabayitabanga. Munankoowoolanga, ne mbaddamu nti: ‘Nzuuno!’ “Bwe mulikomya okunyigiriza bantu bannammwe, ne mumalawo okubanyooma n'okuboogerako ebibi, abayala ne mubawa emmere, ne muyamba abali mu bwetaavu, olwo ekizikiza n'ekifu ebibeetoolodde mmwe, birifuuka ng'ekitangaala eky'omu ttuntu. Era olwo Nze Mukama, nnaabaluŋŋamyanga ennaku zonna, ne mbawa ebirungi ne mu bifo ebikalu, ne mbafuula bagumu ba maanyi. Mulibeeranga ng'ennimiro efukirirwa amazzi, era ng'oluzzi lw'amazzi olutakalira. Abantu abasibuka mu mmwe, balizimba buggya ebifo eby'edda ebyayonoonebwa, balizzaawo emisingi egy'emirembe egy'edda ennyo. Munaayitibwanga abantu abazibi b'ebituli, abazza obuggya ebifo eby'okubeeramu.” Mukama agamba nti: “Bwe munaakuumanga Sabbaato ne mutagikolerangako byammwe bye mwagala naye n'eba olunaku lwange olutukuvu, ne mulussaamu ekitiibwa nga mulekayo okulutambulirako eŋŋendo, okulukolerako emirimu, n'okulwogererako ebigambo eby'ekigayaavu, olwo mulifuna essanyu erisibuka mu kumpeereza Nze Mukama. Ndibaleetera mmwe okuweebwa ekitiibwa mu nsi yonna, era ndibawa ensi gye nagabira jjajjammwe Yakobo, n'eba obutaka bwammwe. Nze Mukama, njogedde.” Muleme kulowooza nga Mukama ye munafu alemeddwa okubanunula, oba nti Mukama kiggala nga tayinza kubawulira. Naye ebibi byammwe bye bibaawula ku Katonda wammwe, n'abeekweka, n'atayagala kubawulira. Mwogera eby'obulimba, n'ebikolwa byammwe bijjudde obukambwe n'obutemu. Tewali awaaba oba awoza bituufu era eby'amazima, naye mwesigama ku bikyamu era mwogera bya bulimba. Mutegeka bya ttima, ne bivaamu akabi. Enkwe ze mukola ziba za kabi ng'amagi g'omusota ogw'obusagwa. Eggi ly'oyasa livaamu musota, era alya ku ggi ng'eryo afa bufi. Ebikolwa byammwe biri nga kuluka ngoye mu lutimbe lwa nnabbubi. Naye enkwe ezo teziribaviiramu kalungi. Ziriba ng'olugoye olukoleddwa mu wuzi za nnabbubi, teluliiko kye lugasa. Mwanguwa okukola ebibi, era temulwawo okubituukiriza. Temusibaamu okutemula abataliiko musango. Buli we muyita muleka muzisizzaawo, era nga muzikirizzaawo. Bulijjo mulowooza kukola bibi. Temumanyi kiyitibwa mirembe, era bye mukola tebibaamu mazima. Mwekubidde amakubo amakyamu, era buli agayitamu taba mirembe. Abantu ne bagamba nti: “Ekyo kye kitugaana okuba n'amazima era n'obwenkanya. Tulinda ekitangaala ne tufuna kizikiza era ne tutambulira mu kifu. Tuwammanta ku bisenge nga bamuzibe. Twesittala mu ttuntu ng'ekiro, ne tuba ng'abali mu nsi y'emagombe. “Ffenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo nga bukaamukuukulu. Twegomba Katonda okutuwonya okunyigirizibwa, kyokka tewali kikolebwa; twegomba okununulibwa, kyokka kutwesamba. “Ayi Mukama, okusobya kwaffe kweyongedde mu maaso go, era ebibi byaffe bitulumiriza. Naffe ffennyini tulaba okusobya kwaffe, n'ebibi byaffe byonna tubimanyi. Tukujeemera ne tukuvaako ggwe Mukama, ne tugaana okukugoberera ggwe Katonda waffe. Twajoonyesa abalala, ne tukujeemera. Ebirowoozo byaffe bikyamu, n'ebigambo bye twogera bya bulimba. Tuggyawo obwenkanya, n'ebituufu ne bitubeera wala. Amazima tegasangibwa mu nguudo, n'obwesimbu tebuliiwo. Amazima gakendedde mu bantu, era oyo alekayo okukola ebibi atuusibwako emitawaana.” Mukama yalaba ekyo, n'anyiiga, olw'obutabaawo bwenkanya. Yeewuunya okulaba nga tewali muntu n'omu awolereza abanyigirizibwa. N'olwekyo ye yennyini ajja kukozesa obuyinza bwe okujuna abantu be, n'okubatuusa ku buwanguzi. Ajja kwambala obwenkanya ng'ekyambalo eky'ekyuma kye bambala mu kifuba, atikkire ku mutwe gwe enkuufiira ey'obuwanguzi. Ajja kwambala okwagala ennyo okutereeza ebintu byonna, n'okubonereza, era n'okuwoolera eggwanga olw'ebikyamu byonna ebyakolebwa ku bantu be. Alibonereza abalabe be ng'asinziira ku bye baakola, ng'atwaliramu n'abo abali ewala. Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba balimutya era balitya obuyinza bwe. Alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa embuyaga ye yennyini Mukama gy'asindika. Mukama agamba abantu be nti: “Ndijja e Siyooni okununula aba Yakobo abakyuka okuva mu bibi byabwe. Ndikola nammwe endagaano. Ntaddewo obuyinza bwange n'ebyo bye njigiriza, bibeerenga nammwe olubeerera. Era okuva kati munaabuuliranga era munaayigirizanga abaana bammwe ne bazzukulu bammwe okumpuliranga emirembe gyonna.” Ggwe Yerusaalemu, situka oyakaayakane ng'enjuba; kubanga ekitangaala kyo kituuse n'ekitiibwa kya Mukama kyakaayakanira ku ggwe. Manya ng'ekizikiza kiribikka ku nsi, ekizikiza ekikutte kiribikka ab'amawanga; naye Mukama alivaayo ng'enjuba mu ggwe, n'ekitiibwa kye kirirabikira mu ggwe. Amawanga galijja eri ekitangaala kyo, ne bakabaka balisikirizibwa okwakaayakana kwo. Yimusa amaaso go otunule eno n'eri olabe: bonna beekuŋŋaanyizza wamu bajje gy'oli. Batabani bo baliva ewala ne bajja, ne bawala bo balisitulibwa ng'abaana abato. Oliraba ekyo n'ojjula essanyu, olibuguumirira olw'okusanyuka, kubanga obugagga bw'amawanga bulireetebwa gy'oli, era bulikutuukako nga buyita ku nnyanja. Amagana g'eŋŋamiya galikujjulamu nga gava e Midiyaani n'e Efa, era galiva n'e Seeba nga galeeta zaabu n'obubaane. Abantu balirangirira amatendo ga Mukama. Endiga zonna ez'e Kedari n'endiga ennume ez'e Nebayooti zirikuleeterwa, n'ozikozesa ky'oyagala. Zinaaleetebwanga ku alutaari yange ne nzikkiriza. Era Essinzizo lyange ndyongera okulifuula eryekitiibwa. Ebyo biki ebiseeyeeya ng'ebire era ng'enjiibwa ezikomawo mu bisu byazo? Ebyo bye byombo ebiva mu nsi ez'ewala, ebikulembeddwa ebyombo by'e Tarusiisi, nga bireeta abantu bo okuva eyo ewala. Baleese ffeeza waabwe ne zaabu waabwe, okussaamu ekitiibwa Mukama Katonda Omutuukirivu wa Yisirayeli, assisaamu abantu be ekitiibwa. Mukama agamba Yerusaalemu nti: “Ab'amawanga amalala balizimba ebigo byo ne bakabaka baabwe balikuweereza. Nakubonereza nga nkwatiddwa obusungu, naye kaakano nkuddiddemu nga nkwatiddwa ekisa. Era enzigi zo zinaabanga nzigule bulijjo: emisana n'ekiro teziggalwengawo, abantu bakuleeterenga obugagga bw'amawanga gaabwe, nga bakabaka baabwe be bakulembeddemu ennyiriri. Kubanga eggwanga n'obwakabaka ebirigaana okukuweereza, biriggyibwawo. Weewaawo amawanga ago galizikiririzibwa ddala. “Emiti n'embaawo ebiva mu Lebanooni ebisingayo obulungi, birireetebwa okuzimba obuggya n'okuwoomya Essinzizo lyange, n'ekibuga kyange okukifuula ekyekitiibwa. Era abaana b'abo abaakujoonyesanga balijja ne bakuvuunamira, n'abo bonna abaakujooganga balifukamira awo ku bigere byo ne bakuyita ‘Ekibuga kya Mukama, Siyooni eky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.’ “Newaakubadde walekebwawo n'okyayibwa nga tewali muntu akuyitamu, ndikufuula waakitiibwa era omulungi, ekifo eky'essanyu emirembe n'emirembe. Amawanga ne bakabaka balikulabirira nga nnyina w'omwana bw'amulabirira. Olimanya nga Nze Mukama, Omulokozi wo era Omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo. “Ndireeta zaabu mu kifo ky'ekikomo, ne ffeeza mu kifo ky'ekyuma. Mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky'amayinja, ndireeta kyuma. Abakufuga tebaakutulugunyenga, ndibafuula benkanya era ba mirembe. Amaloboozi ag'obukambwe tegaliddamu kuwulirwa mu nsi yo, era ensi yo teriddamu kuzika wadde okuzikirizibwa. Ebisenge byo olibiyita ‘Buwanguzi,’ n'emiryango gyo ‘Kutendereza.’ “Toomulisibwenga njuba emisana, wadde ekitangaala ky'omwezi ekiro. Nze Mukama, Nze nnaabanga ekitangaala kyo, ekitangaala ky'ekitiibwa kyange kye kinaakwakangako. Ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba ziweddewo. Nze Mukama, Nze ndifuuka enjuba yo etegwa, n'omwezi gwo ogutavaawo nga nkuwa ekitangaala ekitaliggwaawo. Abantu bo bonna banaakolanga ebituufu n'ensi eyo eriba yaabwe emirembe gyonna. Baliba ttabi lye nasimba era omulimu Nze Nzennyini gwe nakola, ndyoke mpeebwenga ekitiibwa. N'amaka go agasingayo obutono era agataliiko bwe gali, galifuuka ggwanga ery'amaanyi. Nze Mukama ekyo ndikyanguya okubaawo ng'ekiseera kyakyo kituuse.” Mukama Afugabyonna anzijuzizza Mwoyo we kubanga Mukama annonze, n'antuma okubuulira abaavu amawulire amalungi. Antumye okujjanjaba abakoseddwa mu mutima, okubuulira abawambiddwa, nti bajja kuteebwa, n'abasibiddwa nti bajja kusumululirwa ddala. Antumye okulangirira nti ekiseera kituuse Mukama akwatirwe abantu be ekisa, era awangule abalabe baabwe. Antumye okubudaabuda bonna abanakuwadde. Abo abanakuwadde mu Siyooni, antumye okubateerawo n'okubawa engule mu kifo ky'evvu lye beeyiiridde, n'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, n'oluyimba olw'okutendereza mu kifo ky'okukungubaga, balyoke babe ng'emiti Mukama yennyini gye yasimba, bakolenga ebituufu, Mukama alyoke aweebwe ekitiibwa. Balizimba buggya ebibuga eby'edda ebyayonooneka, balizzaawo ebyali bifuuse amatongo. Baliddaabiriza ebibuga ebyayonoonebwa ne bimala emyaka n'emyaka nga birekeddwa awo ttayo. Abagwira be banaaweerezanga mmwe abantu bange, be banaalundanga amagana gammwe. Be banaabalimiranga, era be banaalabiriranga emizabbibu gyammwe. Naye mmwe munaayitibwanga bakabona ba Mukama. Abantu banaabayitanga baweereza ba Katonda waffe. Mmwe munaakozesanga ebyobugagga bw'amawanga, mubyeyagalirengamu. Ebyammwe bikomye eby'okukwatibwa ensonyi n'okuswazibwa. Munaaberanga mu nsi yammwe, obugagga bwammwe ne bweyongerako emirundi ebiri, essanyu lyammwe ne liba lya lubeerera. Mukama agamba nti: “Nze njagala bwenkanya, ne nkyawa okunyaga n'okukola ebibi. Ndiwa abantu bange empeera yaabwe mu bwenkanya, era ndikola nabo endagaano ey'olubeerera. Baliba battutumu mu mawanga. Buli muntu abalaba alimanya nga be bantu, Nze Mukama, be mpadde omukisa.” Ekibuga Yerusaalemu kigamba nti: “Nnaasanyuka nnyo olwa Mukama ne njaganya olwa Katonda wange, kubanga annyambazizza ekyambalo eky'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu. Neetikkidde engule ng'oyo awasizza omugole, era ndi ng'omugole anyumidde mu byambalo bye eby'obugole.” Ng'ettaka bwe limeza ebimera, era ng'ennimiro bw'ekuza ebigisigiddwamu, bw'atyo ne Mukama Afugabyonna bw'alinunula abantu be, ne bafuna ekitiibwa mu maaso g'amawanga gonna. Ku lwa Siyooni sijja kusirika, ku lwa Yerusaalemu siiwummule okutuusa nga kinunuddwa, n'obuwanguzi bwakyo ne bwaka ng'omumuli. Yerusaalemu, amawanga galiraba bw'onunuddwa, bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo. Olituumibwa erinnya eriggya, Mukama yennyini ly'alikutuuma. Oliba ng'engule ennungi ey'obwakabaka Mukama Katonda wo gy'akutte mu ngalo ze. Toliddamu gwakubiri kuyitibwa “Alekeddwawo,” n'ensi yo teriddamu kuyitibwa “Eyazika,” naye oliyitibwa “Katonda gw'asanyukira,” n'ensi yo eriyitibwa “Eyafumbirwa,” kubanga Mukama akusanyukira n'ensi yo gw'erifumbirwa. Ng'omuvubuka bw'awasa omuwala embeerera, ne batabani bo bwe baliwasa; era ng'omusajja awasa bw'asanyukira omugole, bw'atyo ne Katonda wo bw'alikusanyukira. Ntadde abakuumi ku bisenge byo, ggwe Yerusaalemu. Tebaasirikenga n'akatono emisana n'ekiro. Mmwe abajjukiza Mukama okutuukiriza bye yasuubiza, temuwummulanga. Temumuganyanga kuwummula okutuusa lw'alizza Yerusaalemu obuggya, n'akifuula eky'ettendo mu nsi yonna. Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo, alayidde obuyinza bwe nti: “Mazima siriddayo kuwaayo ŋŋaano yo kuliibwa balabe bo, n'abagwira tebalinywa mwenge gwo gwe wateganira bw'otyo. Naye abo abaagikungula, be baligirya, ne batendereza Mukama; n'abo abaanoga emizabbibu, be balinywa omwenge gwagyo mu mpya z'Ekifo kyange Ekitukuvu.” Mmwe abantu b'omu Yerusaalemu mufulume, mufulume emiryango gy'ekibuga, mulongooseze abantu ekkubo; mulime, mulime bulungi oluguudo, mulumalemu ebiyinjayinja, muwanikire amawanga akabonero gamanye nga Mukama alangirira mu nsi yonna nti: “Mugambe ab'omu Siyooni nti Omununuzi wo ajja ng'ali n'empeera n'omusaala by'aligaba.” Muliyitibwa “Bantu batukuvu.” “Banunule ba Mukama”. Naawe Yerusaalemu oliyitibwa “Kibuga Katonda ky'ayagala,” “Kibuga Ekitaayabulirwa.” “Ani ono ava mu Kibuga Bozira eky'omu nsi Edomu? Ani ono ayambadde ebyambalo ebinnyike mu ddagala, ali mu ngoye ezeekitiibwa ng'atambuza maanyi ge amangi?” 1:11-12; Ob 1-14; Mal 1:2-5 “Ye Nze Mukama alina obuyinza okununula, era azze okulangirira obuwanguzi bwange.” “Lwaki engoye zo zimyuse ng'ez'oyo asamba emizabbibu mu ssogolero?” Mukama n'addamu nti: “Nsambye amawanga ng'asamba essogolero obwomu nzekka, nga mu bantu tewali annyamba. Ddala nagasamba ne ngalinnyirira mu busungu bwange n'ekiruyi, omusaayi gwago ne gummansukira, engoye zange zonna ne zijjula amabala. Nasalawo nti ekiseera eky'okununula abantu bange n'okubonereza abalabe baabwe, kituuse. Bwe namagamaga, neewuunya okulaba nga tewali annyamba. Naye obusungu bwange ne bumpa amaanyi, ekiruyi kyange ne kinsobozesa okuwangula. Ne nninnyirira amawanga mu busungu bwange, ne ngabetenta mu kiruyi kyange, ne njiwa ku ttaka omusaayi ogubawa obulamu.” Ka nnombojje eby'ekisa Mukama by'akoze. Ka ntendereze Mukama olw'ebyo byonna by'atukoledde, era olw'ekisa ekingi ky'alaze ab'ennyumba ya Yisirayeli ne by'abakoledde, olw'okusaasira kwe n'olw'ekisa kye ekijjudde okwagala okungi. Mukama yagamba nti: “Mazima bano be bantu bange, abatalifuuka bakuusa.” Kale n'aba Omulokozi waabwe. Yabalumirwa mu kubonaabona kwabwe kwonna, Ye yennyini, sso si malayika we, n'abawonya. Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe, yabanunula, n'abalabiriranga, n'abakwatirangako mu nnaku zaabwe zonna okuva edda. Kyokka bo ne bajeema, ne banakuwaza Mwoyo we Omutuukirivu, kyeyava akyuka n'afuuka omulabe waabwe, ye yennyini n'abalwanyisa. Awo abantu be ne bajjukira ebyaliwo edda, mu biseera bya Musa, ne bagamba nti: “Mukama ali ludda wa eyabasomosa ennyanja, wamu n'abakulembeze b'abantu be? Ali ludda wa oyo eyateeka Mwoyo we Omutuukirivu wakati mu bo? Mukama ali ludda wa eyakozesa obuyinza bwe, n'akola eby'amaanyi ng'ayita mu Musa, n'ayawulamu amazzi g'ennyanja nga balaba, okwekolera erinnya eritalyerabirwa?” Yabayisa mu nnyanja wakati nga tebeesittala, ng'embalaasi bw'eyita mu ddungu. Ng'ente ezitwaliddwa mu kiwonvu ekigimu, ne Mwoyo wa Mukama bwe yawa bw'atyo abantu be okuwummula. Yabakulembera okuweesa erinnya lye ekitiibwa. Ayi Mukama, tutunuulire ng'osinziira mu ggulu, olabe ng'osinziira eyo gy'oli mu butuukirivu bwo ne mu kitiibwa kyo. Obunyiikivu bwo mu kutuyamba buli ludda wa? N'ebikolwa byo eby'amaanyi biri ludda wa? Otuggyeeko okwagala kwo n'okusaasira kwo? Ddala Ggwe Kitaffe. Aburahamu jjajjaffe ne bw'aba nga tatumanyi, ne Yisirayeli ng'atwegaana, Ggwe, ayi Mukama, Ggwe Kitaffe, Omununuzi waffe, okuva ddi na ddi. Ayi Mukama, lwaki otuleka okuwaba ne tuva mu kkubo ly'otulaga? Lwaki okakanyaza emitima gyaffe ne tukuvaako? Ddayo ku nkola yo ey'edda ku lw'abaweereza bo, abantu ababo ku bubwo, ab'omu bika bya Yisirayeli. Ffe ab'eggwanga lyo ettukuvu, ekifo kyo ekitukuvu twakirina kaseera buseera, abalabe baffe ne bakirinnyirira. Tufuuse ng'abo b'otobeerangako mufuzi waabwe, ng'abatabeerangako bantu bo. Ha! Singa nno oyasizza eggulu n'okka, ensozi zandikankanye mu maaso go, ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, era nga bwe gweseza amazzi. Jjangu olage abalabe bo obuyinza bwo, amawanga gakankane mu maaso go. Bwe wakola eby'entiisa bye twali tutasuubira, wakka, ensozi ne zikankana mu maaso go. Okuva edda n'edda, abantu tebawulirangayo era tebalabangayo wadde okutegeerayo Katonda omulala, wabula Ggwe akolera ebyamagero abo abasuubira mu Ggwe. Osanyukira abo abasanyuka okukola by'oyagala, abo abajjukira bw'oyagala bayisenga. Ffe watusunguwalira, naye ne twongera bwongezi okukola ebibi. Twasigala mu ebyo okuva edda. Kale ebyo tulibiwona? Ffenna tufuuse abatali balongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna ebirungi, biri ng'ekyambalo ekikongedde ekko. Ffenna tuli ng'ebikoola ebiwotose, olw'ebibi byaffe, era tutwalibwa embuyaga. Tewali ajja gy'oli okukwegayirira, tewali yeeyuna gy'oli omuyambe. Otwekwese, era otumazeewo olw'ebibi byaffe. Naye ayi Mukama, Ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, Ggwe mubumbi waffe, era ffe ffenna Ggwe watutonda. Kale totusunguwalira kiyitiridde, ayi Mukama, wadde okutuvunaana ebibi byaffe ennaku zonna. Ffenna nga bw'otulaba, tuli bantu bo. Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu: Siyooni ddungu, Yerusaalemu matongo! Essinzizo lyo ettukuvu eddungi bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, lyokeddwa omuliro, n'ebifo byaffe byonna ebisanyusa, bifaafaaganye. Ayi Mukama, tolina ky'ofaayo ebyo byonna nga bimaze okubaawo? Onoosirika busirisi, n'otuleka tuboneebone nnyo nnyini? Mukama agamba nti: “Nakkiriza okunoonyezebwa abo abatambuulirizangako. Nakkiriza okuzuulibwa abo abatannoonyanga. Eggwanga eritankoowoola naligamba nti: ‘Nzuuno, ndi wano.’ Nagololera emikono gyange olunaku lwonna abantu abajeemu, abagoberera empisa ezitali nnungi. Bo bye balowooza bye bagenderako. Bansunguwaza olutata nga baweerayo ebitambiro mu nnimiro, era nga bootereza obubaane ku matoffaali. Ekiro bagenda mu limbo ne ku malaalo, ne basula mu bifo ebikisiddwa. Balya ennyama y'embizzi, ne bawuutira mu bibya byabwe omucuuzi gw'ennyama ey'omuzizo. Bagamba bannaabwe nti: ‘Muyimirire eri wala temutusemberera. Ffe tuli batukuvu okusinga mmwe tetusaana kubeeriraanya!’ Abantu abali ng'abo siyinza kubagumiikiriza. Mbawanda lulusu era mbasibira obusungu obwokya ng'ettuntu! “Laba, nakisalawo dda era ne kiwandiikibwa nga bwe ndibabonereza. Sigenda kubaleka, wabula ndibaweera nga bwe basaanira olw'ebibi byabwe, wamu n'ebya bajjajjaabwe, abaayoterezanga obubaane ku nsozi, ne banzivoolera ku busozi. N'olwekyo ndibabonereza nga nsinziira ku bye baakola. Nze Mukama, njogedde.” Mukama agamba nti: “Nga mu mizabbibu bwe balondamu emirungi ne basogolamu omwenge, nga bagamba nti: ‘Temugizikiriza egyo kubanga girimu omugaso,’ bwe ntyo nange bwe ndikola ku lw'abaweereza bange, nneme kubazikiriza bonna. Mu bazzukulu ba Yakobo ne mu ba Yuda ndyerobozaamu abalifuna ensi eyo omuli ensozi zange. Abalondemu bange era abaweereza bange eriba yaabwe ku bwabwe, era babeerenga omwo. Olw'abantu bange abansinza, Olusenyi lw'e Saroni lulifuuka ddundiro lya ndiga, n'Ekiwonvu kya Akori kirifuuka kifo, ente mwe zigalamira. “Naye mmwe abanvaako, Nze Mukama, abeerabira Olusozi lwange Olutukuvu, ne mutegekera ebijjulo Lubaale-Agaba-Emikisa, ne mujjuliza Lubaale w'Ebigwawo omwenge omutabule gwe muteeka mu bikopo byammwe, ndibateekerawo ekitala mwenna mukutame okuttibwa, kubanga bwe nabayita, temwayitaba; bwe nayogera, temwafaayo kuwulira; naye mwakola bye nabagaana, mwalondawo ebitansanyusa. Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti abo abansinza balirya, era balinywa, naye mmwe mulirumwa enjala n'ennyonta. Bo balisanyuka, naye mmwe muliswazibwa. Abo abakola bye njagala baliyimba olw'essanyu, naye mmwe mulikaaba olw'okunakuwala, ne muwowoggana olw'obulumi. Abalondemu bange banaakozesanga erinnya lyammwe nga bakolima. Nze Mukama Afugabyonna ndibatta mmwe, naye ne ntuuma erinnya eriggya abo abakola bye njagala. N'olwekyo, eyeesabira omukisa mu nsi anaagusabanga Nze, Katonda ow'amazima. N'oyo alayira, anaalayiranga Nze, Katonda ow'amazima, kubanga emitawaana egy'edda giriggwaawo, giryerabirwa, nga sikyagifaako. “Nzuuno ntonda eggulu eriggya n'ensi empya. Ebintu eby'edda tebirijjukirwa, wadde okulowoozebwako. Naye musanyukire era mujaguze ennaku zonna mu ekyo kye ntonda; kubanga Yerusaalemu kye ntonda, kiriba kya kusanyukiramu, era abantu baamu, balijjula essanyu. Ndisanyukira Yerusaalemu, ne njaguza olw'abantu bange. Tewaliba kukaaba maziga, wadde okutema emiranga olw'ennaku. Abaana baliba tebakyafa nga bato. Abantu bonna banaawangaalanga emyaka gyabwe emijjuvu. Abawangadde emyaka ekikumi banaayitibwanga baana bato. Okufa nga togiwezezza kanaabanga kabonero ka kukolimirwa. Abantu balizimba ennyumba ne bazibeeramu. Balisimba ennimiro z'emizabbibu, ne balya ebibala byamu. Amayumba ge balizimba, tegalisulwamu balala, ne bye balisimba tebiririibwa balala. Ng'emiti bwe giwangaala emyaka emingi, n'abantu bange bwe baliwangaala. Abalondemu bange balirwawo nga balya ku bibala ebiva mu ntuuyo zaabwe. Emirimu gye balikola, tegiribafa bwereere, n'abaana be balizaala, tebaliba ba kulaba nnaku, kubanga baliba zzadde ly'abo, Nze Mukama, be mpadde omukisa, bo bennyini, wamu n'ezzadde lyabwe. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, nnaabayitabanga nga tebannaba na kumpita; nnaabaanukulanga nga tebannaba na kumbuuza. Banaabanga bakyayogera, nga Nze nabawulidde dda. Omusege n'endiga ento binaaliiranga wamu, n'empologoma eneeryanga muddo ng'ente; n'enfuufu, ye eneebanga emmere y'omusota. Ku Lusozi lwange lwonna Olutukuvu, tekuubenga kya kabi wadde ekizikiriza.” Mukama bw'atyo bw'agamba. Mukama agamba nti: “Eggulu ye ntebe yange ey'obwakabaka, n'ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Kale nnyumba ya ngeri ki gye mulinzimbira? Era kifo kya ngeri ki mwe ndiwummulira? Ebintu byonna okubaawo nga bwe biriwo, byonna Nze nabitonda. Naye omuntu gwe nzisaako omwoyo ye mwetoowaze era aboneredde, anzisaamu ekitiibwa era akola nga bwe ndagira.” Mukama bw'atyo bw'agamba. “Abantu bye baagala, bye beekolera. Tebalina bye baggyamu njawulo! Oli bw'atambira ente, aba kimu n'oyo atambidde omuntu. Oyo awaayo ekitambiro eky'endiga ento, tabaako njawulo n'oyo amenya obulago bw'embwa. Oyo aleeta ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, aba kimu n'oyo aleeta omusaayi gw'embizzi. Oyo anyookeza obubaane, abeera kimu n'oyo asaba ekifaananyi kya lubaale omukisa. Kye baagala kye beekolera, era basanyukira ebyenyinyalwa bye bakola. Kale nange ndibatuusaako ebyo byennyini ebibakosa era bye batya, kubanga bwe nakoowoola, tewaali n'omu yayitaba. Bwe nayogera, tewaali yafaayo kuwulira, naye ne bakola bye mbagaana, ne balondawo ebitansanyusa.” Muwulire Mukama ky'agamba mmwe abassaayo omwoyo okukola by'alagira: “Bannammwe ababakyawa era ababagobaganya mmwe olw'okuba abeesigwa gye ndi, babakudaalira nga bagamba nti: ‘Mukama abataase mmwe, alage bw'ali omukulu, tulyoke tulabe bwe musanyuka.’ Naye bo bennyini be baliswala. Muwulire okuyoogaana okuva eri mu kibuga, eddoboozi eriva mu Ssinzizo, eddoboozi lya Mukama ng'abonereza abamukyawa. “Ekibuga kyange Siyooni kiri ng'omukazi azaala nga tannaba kulumwa kuzaala. Ebisa biba tebinnamuluma, n'akubawo omwana ow'obulenzi. Ani yali akiwuliddeko ekyo? Ani yali alabye ekiri ng'ekyo? Eggwanga litandikawo mu lunaku lumu, ne lizaalibwa omulundi gumu? Ye Siyooni yali kyajje alumwe, n'azaala abaana be. Ndituusa abantu bange mu kaseera ak'okuzaalibwa, ne sibaleka kuzaalibwa ne mbalekayo mu nda?” Mukama Katonda wammwe bw'atyo bw'agamba. Musanyukire wamu ne Yerusaalemu, musagambize ku lulwe, mmwe mwenna abamwagala. Mwetabe wamu mu ssanyu lye mmwe mwenna abamulumirwa, mulyoke muyonke mukkute amabeere ge agajjudde; mulyoke muwulire essanyu mu kitiibwa kye ekisukkirivu. Kubanga Mukama agamba nti: “Ndijjuza ebirungi mu Yerusaalemu bikulukute ng'omugga, n'obugagga bw'amawanga buliyiika mu kyo ng'omugga ogwanjaala. Olwo nammwe muliyisibwa ng'omwana omuwere ayonsebwa nnyina: muliwambaatirwa, ne mubuusibwabuusibwa ku maviivi ge. Ndibabudaabudira mmwe mu Yerusaalemu, nga nnyina w'omwana bw'abudaabuda omwana we. Ekyo mulikiraba ne musanyuka, ne kibazzaamu amaanyi n'obulamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, nnyamba abo abampulira, era nsunguwalira abalabe bange.” Kale mulabe: Mukama alijja n'omuliro, nga yeebagadde amagaali agali nga kibuyaga ng'ajja okulaga obusungu bwe obuliko n'ekiruyi, n'okubonereza ng'akozesa ennimi ez'omuliro. Kubanga Mukama abantu bonna alibabonereza na muliro era na kitala, era b'alitta, baliba bangi. Mukama agamba nti: “Abo abeetukuza ne beerongoosa, okugenda ku mikolo mu nnimiro nga basimbye ennyiriri, ne balya ennyama y'embizzi, n'emmese, n'ebirala ebyenyinyalwa, balisaanyizibwawo wamu. Nze bye bakola mbimanyi ne bye balowooza. Ekiseera kijja kutuuka lwe ndikuŋŋaanya ab'amawanga gonna n'aboogera ennimi eza buli ngeri. Kale bwe balijja, baliraba ekitiibwa kyange, ne mbaako kye ndibakolako. Abo abaliwonawo ku bo, ndibatuma mu mawanga, ne mu bizinga ebiri ewala gye batawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. Baligenda e Tarusiisi, e Puuli n'e Luudi eri abaleega emitego gy'obusaale; e Tubali n'e Yavani, ne balangirira ekitiibwa kyange mu mawanga ago. Balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna, okubantonera Nze Mukama, ku Lusozi lwayo Olutukuvu Yerusaalemu. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali, ne ku nnyinyo, ne ku nnyumbu, ne ku nsolo ezidduka embiro, ng'Abayisirayeli bwe baleeta ebiweebwayo mu Ssinzizo, nga biri mu bintu ebirongoofu. Abamu ku bo ndibafuula bakabona n'Abaleevi.” Mukama bw'atyo bw'agamba. “Ng'eggulu eppya n'ensi empya bye ndikola, bwe birisigalawo mu maaso gange, bwe lityo n'ezzadde lyammwe era n'erinnya lyammwe bwe lirisigalawo. Buli omwezi lwe guboneka, ne ku buli Sabbaato, abantu bonna banajjanga okusinza mu maaso gange.” Mukama bw'atyo bw'agamba. “Bwe banaabanga bavaayo, banaalabanga emirambo egy'abantu abanjeemera. Envunyu ezibalya tezirifa, n'omuliro ogubookya tegulizikizibwa, era baliba kyenyinyalwa eri abantu bonna.” Bino bye bigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Hilukiya, omu ku bakabona b'e Anatooti, mu nsi ya Benyamiini. Mukama yayogera ne Yeremiya, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu nga Yosiya mutabani wa Ammoni ye kabaka wa Buyudaaya. Era yayogera naye nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka. N'oluvannyuma Mukama yayogera naye emirundi mingi, okutuusa mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, ogw'obufuzi bwa Ssekabaka Zeddeekiya mutabani wa Yosiya. Mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogwo, abantu b'omu Yerusaalemu mwe baatwalirwa mu buwaŋŋanguse. Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Nakulonda nga sinnakubumba mu lubuto lwa nnyoko. Era nakutukuza nga tonnazaalibwa, ne nkuteekawo okuba omulanzi eri amawanga.” Awo nze ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, simanyi kwogera, ndi mwana muto.” Naye Mukama n'aŋŋamba nti: “Togamba nti oli mwana muto. Naye genda eri abo gye nkutuma, era obategeeze byonna bye nkulagira okwogera. Tobatyanga, kubanga Nze ndi wamu naawe okukuwonya. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'agolola omukono gwe, n'akwata ku mimwa gyange, n'aŋŋamba nti: “Kaakano ntadde ebigambo byange mu kamwa ko. Olwaleero nkuwadde obuyinza ku mawanga ne ku bwakabaka, okukuula n'okumenya, okuzikiriza n'okusuula, okuzimba n'okusimba.” Awo Mukama n'ambuuza nti: “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba ettabi ly'omuti gw'ebinyeebwa.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Olabye bulungi, kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza.” Mukama n'aŋŋamba omulundi ogwokubiri nti: “Kiki ekirala ky'olaba?” Ne nziramu nti: “Ndaba entamu mu bukiikakkono, eyeesera nga yeewunzikidde eno.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Akabi kalifuluma mu bukiikakkono okutuuka ku bantu bonna abali mu ggwanga lino. Ndiyita amawanga gonna ag'omu bwakabaka obw'omu bukiikakkono. Bakabaka baayo balijja ne bateeka entebe zaabwe ku miryango gya Yerusaalemu, n'okwetooloola ebisenge byakyo, n'okwetooloola ebibuga ebirala ebya Buyudaaya. Ndisalira abantu bange omusango okubasinga olw'ebibi byabwe, kubanga bandeseewo ne bootereza balubaale obubaane, era ne basinza ebyo bo bennyini bye baakola. Kale ggwe, situka weesibe ekimyu, obategeeze byonna bye nkulagira okwogera. Baleme kukutiisa, sikulwa nga Nze nkutiisa mu maaso gaabwe. Olwaleero nkufudde ekibuga ekinywevu, empagi ey'ekyuma, era ekisenge eky'ekikomo, okulwanyisa ensi Buyudaaya yonna: bakabaka baayo, abakungu ne bakabona baayo, n'abantu baayo bonna. Balikulwanyisa, naye tebalikuwangula, kubanga Nze ndi wamu naawe. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda olangirire, ab'omu Yerusaalemu bawulire nti: Mukama agamba nti: ‘Nzijukira nga bwe wali omwesigwa mu buto bwo, nga bwe wanjagalanga ng'okyali mugole, nga bwe wangobereranga mu ddungu, mu nsi etesigiddwamu. Yisirayeli, wali wange nzekka. Wali mutukuvu, gwe nasooka okwefunira, nga buli akulumya aba azzizza musango, era ng'atuukibwako akabi. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ” Muwulire obubaka bwa Mukama, mmwe bazzukulu ba Yakobo, mmwe mwenna ebika bya Yisirayeli. Mukama agamba nti: “Kibi ki bajjajjammwe kye banvunaana? Kiki ekyabaleetera okunvaako? Lwaki baagoberera ebitaliimu nsa, nabo ne bafuuka abataliimu nsa? Tebeebuuzanako nti: ‘Mukama ali ludda wa? Ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, n'atuyisa mu lukoola, ensi ey'amalungu n'obunnya, enkalu era ey'akabi, ensi eteyitikamu, era etebeeramu bantu.’ Nabaleeta mmwe mu nsi engimu, okulyanga ebibala byamu, n'ebirungi byamu ebirala. Naye mmwe bwe mwayingira, ne mwonoona ensi yange, ne mufaafaaganya ensi gye nabawa mmwe. Bakabona tebeebuuza nti: ‘Mukama ali ludda wa?’ Ne bannamateeka tebammanya. N'abakulembeze banjeemera, abalanzi ne balagula ku lwa Baali, ne bagoberera ebitaliiko kye bigasa. “N'olwekyo Nze Mukama, nja kwongera okubalumiriza mmwe omusango, era ndigulumiriza n'abaana bammwe n'abazzukulu. Muwunguke mugende mu kizinga ky'e Kittimu, oba mutume e Kedari, mwetegereze mulabe oba nga waali wabaddewo ekintu ekifaanana nga kino. Waliwo eggwanga erikyusa balubaale baalyo, ne bwe bataba balubaale ddala? Naye abantu bange, mu kifo kyange Nze Katonda abaweesezza ekitiibwa, bataddewo balubaale abataliiko kye bagasa. Ggwe ggulu, samaalirira olw'ekyo, weewuunye oyanaamirire, kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri: banvuddeko Nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ebiwomoggofu, ebitayinza kubeeramu mazzi. “Abayisirayeli baddu? Baazaalibwa mu buddu? Kale lwaki bayiggibwa? Abalabe baabwe babawulugumirako ng'empologoma. Eggwanga lyabwe balifudde ddungu, ebibuga byabwe bifuuse matongo, tebikyalimu bantu. Ddala abantu b'e Menfiisi n'ab'e Tapaneesi babaasizza mmwe ebiwanga! Kino mmwe mukyereetedde, kubanga munvuddeko Nze, Mukama Katonda wammwe, nga Nze mbadde mbaluŋŋamya mu kkubo. Kaakano kibagasa ki okukwata ekkubo erigenda e Misiri? Okunywa amazzi ga Kiyira? Oba kale mufunamu ki, okukwata ery'e Assiriya? Okunywa amazzi g'omugga Ewufuraate? Ekibi kyammwe kyennyini kiribabonereza mmwe; era okunvaako kwammwe, kulibasalira omusango okubasinga. Mumanye era mulabe bwe kiri ekibi era bwe kiri eky'obulumi okunvaako Nze Mukama Katonda wammwe, era n'obutakyantya. Nze Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Okuva edda, mwagaana obuyinza bwange ne munjeemera, ne mugamba nti: ‘Tetujja kukuweereza.’ Mwalekayo okuba abeesigwa, ne musinzizanga balubaale ku buli lusozi oluwanvu, ne wansi wa buli muti. Sso nga nali mbasimbye ng'omuzabbibu omulondemu mu mirala ogw'ensigo esinga obulungi. Naye kale mwonoonese mutya ne mufuuka omuzabbibu ogw'omu ttale? Ne bwe munaabisa oluvu ne ssabbuuni omungi, era nsigala nkyalaba ebbala ly'ekibi kyammwe. Muyinza mutya okugamba nti: ‘Tetwonoonese, tetusinza Babaali?’ Mulabe nga bwe mweyisa mu kiwonvu, mutegeere bye mwakola. Muli ng'eŋŋamiya eraluse, edduka ng'edda eno n'eri. Muli ng'entulege eyamanyiira eddungu, ekuba emyasi nga yeegomba okulinnyirwa ennume. Ani ayinza okugiziyiza? Ennume eziginoonya tezeekooya: zisanga esaze, kye kiseera kyayo. Muleme kuggweereza ngatto zammwe, wadde okwekaza emimiro nga mudduka okugoberera balubaale! Naye mugamba nti: ‘Tetuyinza kweziyiza, kubanga twagadde balubaale abagwira, era be tujja okugoberera.’ ” Mukama agamba nti: “Ng'omubbi bw'aswala nga bamukutte, nammwe Abayisirayeli mwenna bwe muliswala, awamu ne bakabaka bammwe, n'abakungu, ne bakabona bammwe, n'abalanzi. Mugamba ekikonge nti: ‘Ggwe kitaffe,’ n'ejjinja nti: ‘Ggwe nnyaffe.’ Munkubye amabega gammwe, ne mutantunuulira. Naye bwe mubeera mu buzibu, nga munsaba nti: ‘Jjangu otulokole.’ “Kale balubaale bammwe be mwekoledde bali ludda wa? Bwe mubeera mu buzibu, kale basituke, oba nga bayinza. Mmwe ab'omu Buyudaaya, mulina balubaale abenkana ebibuga byammwe obungi. Musango ki gwe munnumiriza? Mwenna munjeemedde! Nababonereza mmwe, naye tekyavaamu mugaso, kubanga temukkiriza kukangavvulwa. Mutemudde abalanzi bammwe, nga muli ng'empologoma ezikiriza abantu. “Mmwe Abayisirayeli ab'omulembe guno, muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba. Nali ddungu gye muli, oba nsi ekutte ekizikiza? Kale mmwe abantu bange, kiki ekiboogeza nti: ‘Tujja kwetaaya, tetukyadda gy'oli?’ Omuwala ayinza okwerabira ebibye eby'okwewoomya? Oba omugole ebyambalo bye? Naye abantu bange banneerabidde ennaku nnyingi ezitabalika! “Nga mumanyi nnyo okuganza abalala! N'abakazi ab'empisa embi bayinza okuyigira ku mmwe! Ebyambalo byammwe biriko amabala g'omusaayi gw'abaavu abatalina musango, era be mutakwatidde mu kubba. “Newaakubadde ebyo byonna biri bwe bityo, era mugamba nti: ‘Tetuliiko musango. Ddala Mukama takyatulinako busungu.’ Naye Nze Mukama nja kubabonereza mmwe, kubanga mugamba nti temukolanga kibi. Lwaki mukyukakyuka, ne mugoberera balubaale b'amawanga amalala? Misiri ajja kubaleka mu bbanga muswale, nga Assiriya bwe yakola. N'ewuwe mulivaayo nga mwetisse emikono ku mitwe. Nze Mukama ŋŋaanyi abo be mwesiga, era temulibafunamu mukisa.” Mukama agamba nti: “Omusajja bw'agoba mukazi we, omukazi n'agenda n'afumbirwa omusajja omulala, singa omusajja oyo ate addira omukazi oyo, ensi eyo tejjaamu emitawaana? Naye ggwe Yisirayeli weefuula omwenzi, n'oba ne baganzi bo bangi, kyokka oyagala okunzirira? Tunuulira entikko z'ensozi enjereere olabe. Waliwo ekifo kye bateebakangamu naawe? Baganzi bo abo wabatuulirira ku mabbali g'ekkubo, ng'Omuwarabu bw'ateega abantu mu ddungu. Enkuba kyevudde eziyizibwa wadde okuwandaggirira, n'ebire byayo ne bitayiika. Era osigadde okyatunuza bukaba, n'otokwatibwako na nsonyi. “Kaakano ova kuŋŋamba nti: ‘Ggwe kitange, eyanjagala okuviira ddala mu buto bwange. Ononsunguwaliranga bulijjo? Olinsibira obusungu bwo ennaku zonna?’ Ekyo okyogera, naye n'osigala ng'okola ebibi byonna ebisoboka!” Yosiya bwe yali nga ye kabaka, Mukama n'aŋŋamba nti: “Olabye Yisirayeli, omukazi atali mwesigwa, ky'akoze? Yanvaako, n'ayendera ku buli lusozi oluwanvu, ne wansi wa buli muti omubisi. Ne ndowooza nti bw'alimala okukola ebyo byonna, alinzirira, kyokka n'atadda. Ne muganda we Buyudaaya ow'enkwe, n'akiraba. Buyudaaya era yalaba nga nagoba Yisirayeli, ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba olw'obwenzi bwe. Kyokka Buyudaaya ow'enkwe, muganda wa Yisirayeli, n'atatya, wabula n'agenda, naye ne yeefuula omwenzi atakwatibwa na ku nsonyi. Bw'atyo n'ayonoona ensi, n'amenya obwesigwa, ng'asinza amayinja n'ebitittiriri. Ng'ebyo byonna bimaze okubaawo, Buyudaaya ow'enkwe, muganda wa Yisirayeli, n'atanzirira na mutima gwe gwonna, wabula n'akuusakuusa. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Newaakubadde nga Yisirayeli yanvaako, naye yeeraze nga mulungiko okusinga Buyudaaya ow'enkwe. Kale genda olangirire bino eri Yisirayeli nti: ‘Mukama agamba nti: Komawo ggwe Yisirayeli, eyaseeseetuka n'onvaako. Sijja kubatunuuliza busungu, kubanga ndi musaasizi. Siribasunguwalira mirembe gyonna. Kkiriza bukkiriza omusango gwo, nti wajeemera Mukama Katonda wo, ne weegabulira balubaale abagwira wansi wa buli muti omubisi, era kkiriza nti temwagondera biragiro byange. Nze Mukama, Nze njogedde.’ “Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa, kubanga muli bange. Ndiggya omu ku mmwe mu buli kibuga, n'ababiri mu buli kika, ne mbaleeta ku Lusozi Siyooni. Ndibawa abakulembeze abakola bye njagala, abanaabalabiriranga, nga bajjudde okumanya n'okutegeera. Awo bwe muliba nga mweyongedde obungi mu nsi eyo, abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko ey'Endagaano. Baliba tebakyagirowoozaako, wadde okugijjukira. Tebaligijulirira era tebalikola ndala. Mu biro ebyo, Yerusaalemu aliyitibwa ‘Entebe ya Mukama,’ era ab'amawanga gonna balikuŋŋaanira eyo okunsinza Nze Mukama. Baliba tebakyakola ebyo emitima gyabwe emikakanyavu era emibi, bye gibagamba. Mu biro ebyo, ab'omu Yisirayeli balyegatta wamu n'ab'omu Buyudaaya, era baliviira wamu mu buwaŋŋanguse mu nsi ey'omu bukiikakkono, ne bayingira mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeerenga yaabwe olubeerera.” Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, nalowooza okubabalira mu batabani bange, mbawe ensi esanyusa, esingira ddala obulungi mu mawanga gonna. Nayagala mumpitenga kitammwe, era mulemenga kunvaako. Naye ng'omukazi atali mwesigwa bw'ava ku bba, nammwe, temubadde beesigwa gye ndi. Nze Mukama, Nze njogedde.” Eddoboozi by'Abayisirayeli liwuliddwa ku ntikko z'ensozi nga bakaaba era nga bawanjaga, kubanga beeyisa bubi ne beerabira Mukama Katonda waabwe. Mukama agamba nti: “Mukomeewo mmwe mwenna abatabadde beesigwa, nja kubawonya mbafuule beesigwa.” Mmwe ne mugamba nti: “Weewaawo, tujja gy'oli, kubanga ggwe Mukama, Katonda waffe. Ddala teri mugaso gusuubirwa kuva ku busozi, ne mu kuleekaanira ku nsozi. Ddala Mukama Katonda waffe ye anaayamba Yisirayeli. Naye okuviira ddala edda, lubaale akwasa ensonyi, ye amazeewo byonna bajjajjaffe bye baateganira: amagana g'embuzi n'ag'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe. Twevuunike nga tukwatiddwa ensonyi, okuswala kwaffe kutubikkeko. Ffe ne bajjajjaffe twakola ebibi eri Mukama Katonda waffe. Tetugonderanga biragiro bye.” Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, oba nga mukkiriza okudda gye ndi, kale mudde. Bwe muggyawo mu maaso gange ebyenyinyalwa byammwe, ne muba beesigwa gye ndi, olwo munaalayiranga mu mazima, mu bwenkanya, ne mu butuufu nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu.’ Era olwo amawanga gonna ganansabanga okugawa omukisa, era ganantenderezanga.” Mukama agamba abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti: “Mulime ettaka lyammwe eritali ddime, era temusiga mu maggwa. Mukuume endagaano gye mwakola nange Nze Mukama, era mweweeyo gye ndi, mmwe abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, obusungu bwange buleme okwaka ng'omuliro olw'ebibi bye mwakola, ne wataba ayinza kubuzikiza.” Mulangirire mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu mugambe nti: “Mufuuwe eŋŋombe mu ggwanga, mukangule eddoboozi mugambe nti: ‘Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko ebigo!’ ” Muwanike bbendera nga mulaga e Siyooni. Mudduke okwewonya, temulwa, kubanga Mukama alireeta akabi n'okuzikirira okw'amaanyi okuva mu bukiikakkono. Omuzikiriza w'amawanga avuddeyo ng'empologoma eva mu kisaka kyayo. Azze okuzikiriza ensi yammwe. Ebibuga byammwe alibizikiriza ne bitabaamu abibeeramu. N'olwekyo mwambale ebikutiya, mukaabe, mukube ebiwoobe, kubanga obusungu bwa Mukama obukambwe tebukyuse kutuvaako. Mukama agamba nti: “Ku lunaku olwo, kabaka n'abakungu baliggwaamu amaanyi. Bakabona balisamaalirira, n'abalanzi balyewuunya.” Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, olimbyerimbye eggwanga lino, n'ekibuga Yerusaalemu ng'ogamba nti: ‘Muliba mirembe!’ Naye ekitala kisembedde okubasaanyaawo!” Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino, n'ekibuga Yerusaalemu nti: “Embuyaga ey'ebbugumu efuuwa, ng'eva ku nsozi mu ddungu okujja gye muli, si mpewo empeweevu, efuuwa obufuuyi ebisukunku. Embuyaga Mukama gy'alagidde okujja, egenda kuba ya maanyi nnyo okusingawo. Kaakano Mukama yennyini, ye asalira abantu be omusango.” Omulabe wuuyo ajja ng'ebire. Amagaali ge gali ng'embuyaga ey'akazimu, n'embalaasi ze zanguwa okusinga empungu. Zitusanze! Tuzikiridde! Yerusaalemu, naaza omutima gwo, guggweemu ebibi, olyoke olokolebwe. Olituusa wa okulowooza ebirowoozo ebibi? Ababaka bavudde mu kibuga Daani ne mu nsozi z'e Efurayimu, okulangirira amawulire ag'akabi. Bazze okulabula amawanga n'okutegeeza Yerusaalemu nti abalabe bajja, nga bava mu nsi ey'ewala. Abalabe abo bagenda kuleekaanira ebibuga bya Buyudaaya. Balyebungulula Yerusaalemu ku njuyi zonna, ng'abakuuma ennimiro, kubanga abantu baakyo baajeemera Mukama. Mukama yennyini ye ayogedde. Buyudaaya, ggwe weereetedde ebyo olw'enneeyisa yo, n'olw'ebyo by'okoze. Ekibi kyo kye kireese okubonaabona kuno, era kye kikufumise omutima. Obulumi n'obuyinike bunzita! Omutima gunnuma, gunanjabika! Siyinza kusirika, kubanga mpulidde eddoboozi ly'eŋŋombe, n'okukuba enduulu z'olutalo. Akabi kaddirira kabi, kubanga eggwanga lyonna lyonooneddwa Amangwago eweema zaffe zizikiriziddwa, entimbe zaazo ziyuziddwa obulere. Ndituusa wa okulaba bbendera y'olutalo, n'okuwulira eddoboozi ly'eŋŋombe? Mukama agamba nti: “Abantu bange basirusiru tebammanyi. Bali ng'abaana ababuyabuya: tebaliimu kategeera. Bamanyirivu mu kukola ebibi, naye okukola ebirungi tebamanyi!” Natunuulira ensi, ne ndaba nga njereere era ng'eri mu mbeera eyeetabuddetabudde, n'eggulu nga teririiko kitangaala. Natunuulira ensozi ne ndaba nga zikankana, n'obusozi bwonna nga bwewuuba. Natunula ne ndaba nga tewali bantu n'ebinyonyi byonna nga bibuuse bigenze. Natunula ne ndaba ng'ensi engimu efuuse ddungu, n'ebibuga byamu byonna nga bimenyeddwamenyeddwa, olwa Mukama okusunguwala ennyo. Mukama agamba nti: “Ensi yonna erizika, naye sirigisaanyizaawo ddala.” Ensi kyeriva enakuwala, n'eggulu ne liddugala. Nze nkyogedde, sijja kukikyusa. Mmaliridde, sikyeddamu kukireka. Oluliwulira okuleekaana kw'abeebagazi b'embalaasi n'abalasi b'obusaale, bonna balidduka. Abamu balyefubitika mu bibira, abalala balirinnya enjazi. Ebibuga byonna birirekebwa awo, tewaliba babibeeramu nate. Ayi Yerusaalemu, oyabuliddwa! Oyambalira ki ebimyufu? Weewoomeza ki n'ebya zaabu wadde okwetona langi ku bisige by'amaaso? Weenyiririza bwereere. Baganzi bo bakunyooma, era banoonya kukutta. Mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, omulanga ng'ogw'omukazi azaala omwana we omuggulanda. Lye ddoboozi lya Yerusaalemu asika omukka nga tegujja. Ayanjala emikono gye ng'agamba nti: “Nga zinsanze! Obulamu bwange buggwaawo, abatemu babusaanyaawo!” Ab'omu Yerusaalemu mudduke nga mudda eno n'eri mu nguudo z'ekibuga kyammwe. Mutunuletunule mu bifo byakyo ebigazi, mulabe oba nga munaazuulamu wadde omuntu omu bw'ati akolera ku bwenkanya, era agoberera amazima, Mukama alyoke akisonyiwe. Era ne bwe bagamba nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu,” balayira bya bulimba. Ayi Mukama, ggwe otunuulira mazima. Obakubye, naye ne batanakuwala. Obabonerezza, naye ne bagaana okwegolola. Bagubye ng'olwazi, ne batava mu bibi byabwe. Nalowooza nti: “Bano abaavu era abasirusiru be bokka abatamanyi ebyo Mukama by'ayagala, era Katonda waabwe by'alagira. Nja kugenda eri abakulembeze njogere nabo, kubanga bo bamanyi ebyo Mukama by'ayagala era Katonda waabwe by'alagira.” Naye bonna awamu bamujeemedde ne batawulira biragiro bye. Empologoma eziva mu kibira kyeziriva zibatta, emisege egiva mu ddungu ne gibazikiriza. Engo ziriteegera okumpi n'ebibuga byabwe ne zitaagulataagula buli abifulumamu, kubanga ebibi byabwe bingi, era bavudde nnyo ku Katonda. Mukama agamba nti: “Nnyinza ntya okubasonyiwa? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayira abo abatali Katonda. Nabawa buli kye beetaaga, naye ne bataba beesigwa. Ne bakuŋŋaaniranga mu nnyumba za bamalaaya. Baali ng'embalaasi eza sseddume eziriisiddwa obulungi, ezirulunkanira okulinnyira enkazi: buli omu ne yeegomba muka munne! Ndirema ntya okubabonereza olw'ekyo, n'okumalira ekiruyi ku ggwanga eriri ng'eryo? “Muyite mu nnimiro zaabwe ez'emizabbibu, muzizikirize, naye temuzisaanyizaawo ddala. Muwogoleko amatabi, kubanga si gange. Abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya tebabadde beesigwa gye ndi n'akatono. Nze Mukama, Nze njogedde.” Boogedde eby'obulimba ku Mukama, ne bagamba nti: “Taliiko ky'anaakola. Tewali kabi kanaatutuukako. Tetulituukibwako lutalo, wadde enjala. Abalanzi bali nga mukka bukka. Tebalina bubaka bwe baleeta.” Mukama Katonda Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Nga bwe boogedde bwe batyo, ndifuula ebigambo byange omuliro mu kamwa ko. Abantu bano baliba ng'enku, omuliro ogwo ne gubookya. Ndireeta ab'eggwanga ery'ewala, ne libalumba mmwe Abayisirayeli. Abo be b'eggwanga ery'amaanyi ery'edda, era ery'olulimi lwe mutamanyi, era nga temutegeera bye boogera. “Bonna basajja ba maanyi, ensawo y'obusaale bwabwe eri ng'entaana eyasaamiridde. Balirya emmere yammwe, ne byonna bye mukungudde. Balisaanyaawo batabani bammwe. Balisaanyaawo embuzi zammwe n'ente zammwe. Balisaanyaawo emizabbibu gyammwe n'emitiini gyammwe. Balizikiriza mu lutalo ebibuga byammwe ebiriko ebigo bye mwesiga.” Mukama agamba nti: “Naye ne mu biro ebyo, siribasaanyizaawo ddala mmwe. Era abantu bwe balibuuza nti: ‘Lwaki Mukama Katonda waffe yatukola ebyo byonna?’ Mulibaddamu nti: ‘Nga mmwe bwe mumuvuddeko, ne muweereza balubaale abagwira mu ggwanga lyammwe, bwe mutyo bwe munaaweerezanga bannamawanga mu nsi eteri yammwe.’ ” Mukama agamba nti: “Mutegeeze bazzukulu ba Yakobo nti: ‘Muwulire mmwe abantu abasirusiru, era abatategeera, abalina amaaso ne mutalaba, abalina amatu ne mutawulira. Nze Mukama, lwaki temuntya? Lwaki temukankana mu maaso gange? Nateekawo omusenyu okuba ensalo y'ennyanja, ensalo ey'olubeerera, ennyanja gy'eteyinza kubuuka. Amayengo gaayo ne bwe geesuukunda gatya, tegayinza kuwagula. Ne bwe gawuuma gatya, tegayinza kugisukka. Naye bantu mmwe, muli ba mitima mikakanyavu, era bajeemu. Munvuddeko ne mugenda.’ Temulowoozaako nti: ‘Tutye Mukama Katonda waffe atonnyesa enkuba mu biseera byayo, era ateekawo ebiseera eby'amakungula buli mwaka. Ebibi byammwe bye bibaziyizza okufuna ebirungi ebyo.’ “Mu bantu bange mulimu abakola ebibi. Bateega ng'abatezi b'ebinyonyi. Bo omutego bagutega kukwasa bantu. Ng'omuyizzi bw'ajjuza omuyonjo gwe ebinyonyi, nabo bwe bajjuza amayumba gaabwe bye banyaze. Kyebavudde bafuuka ab'obuyinza era abagagga. Bagezze era banyiridde. Ebikolwa byabwe ebibi tebiriiko kkomo. Tebawolereza batalina bakitaabwe kufuna byabwe, wadde okutaasa eby'abaavu.” Mukama agamba nti: “Sirirema kubabonereza olw'ebyo, n'okumalira ekiruyi ku ggwanga lino. Ekyenyinyalwa era eky'ekivve kiguddewo mu ggwanga: abalanzi balagula bya bulimba, ne bakabona bafuga ng'abalanzi bwe babalagira, n'abantu bange ne batakiwakanya. Naye kiki kye mulikola ku nkomerero?” Bazzukulu ba Benyamiini, mudduke mwewonye. Muve mu Yerusaalemu. Mufuuyire eŋŋombe e Tekowa. Muwanike akabonero ku Beti Akkaremu, kubanga akabi n'okuzikirira binaatera okujja nga bisibuka mu bukiikakkono. Ndizikiriza Siyooni ekibuga ekirungi. Abafuzi balikirumba nga bali n'amagye gaabwe. Balisiisira okukyetooloola, buli omu mu kifo kye. Baligamba nti: “Mwetegeke okukirumba. Musituke tukirumbe mu ttuntu.” Ate baligamba nti: “Obudde buyise, olunaku lunaatera okuggwaako. Ebisiikirize by'olweggulo biwanvuye. Musituke, tukirumbe mu kiro, tuzikirize amayumba gaakyo.” Kino Mukama Nnannyinimagye ky'alagidde nti: “Muteme emiti, mutuume entuumu okuzinda Yerusaalemu. Ekibuga kino kya kubonerezebwa, kubanga kijjudde eby'obukambwe. Ng'oluzzi bwe lubaamu amazzi gaalwo amalungi, nakyo bwe kityo bwe kikuuma ebibi byakyo: obukambwe n'okuzikirira bye mpulira mu kyo. Obulwadde n'ebiwundu bye ndaba bulijjo. Ggwe Yerusaalemu, labuka, nneme okwawukana naawe, nneme kukufuula matongo, ekifo omutali bantu.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Abasigaddewo mu Yisirayeli, balimalibwawo ng'ennimiro y'emizabbibu gye banozeemu buli kirimba. Kale ddamu okuwenja amatabi ng'omunozi w'emizabbibu bw'akola.” Ne ŋŋamba nti: “Ani anampuliriza bwe nnaayogera okubalabula? Bakakanyavu ba mitima, era tebayinza kuwuliriza. Basekerera by'ontuma okubategeeza, tebabisanyukira n'akatono. Kyenvudde nzijula obusungu ng'obubwo. Ayi Mukama, sikyayinza kubuzibiikiriza!” Mukama n'aŋŋamba nti: “Obusungu obwo buyiwe ku baana abato mu nguudo, ne ku bavubuka abakuŋŋaanye. Abasajja ne bakazi baabwe balitwalibwa, abakulu n'abakadde ennyo tebalirekebwa. Ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, n'ennimiro zaabwe bwe zityo, era ne bakazi baabwe, bwe ndibonereza abantu b'omu ggwanga lino. “Ekyo kiriba bwe kityo kubanga bonna, abakulu n'abato, balulunkanira bya kufuna. Wadde abalanzi ne bakabona, nabo balyazaamaanya. Ebiwundu by'abantu bange babijjanjabye ne biwona kungulu kwokka, ne bagamba nti: ‘Byonna biri bulungi,’ sso nga tebiri bulungi. Baakwatibwa nno ensonyi bwe baamala okukola ebyenyinyalwa? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono. Tebamanyi na kiyitibwa kusonyiwala. Kyebaliva bagwa ng'abalala bwe baagwa. Mu kiseera kye ndibonererezaamu, balisiguukululwa. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba abantu be nti: “Muyimirire ku mabbali g'amakubo ne mu masaŋŋanzira, mulabe. Mubuuze awali amakubo ag'edda, n'oluguudo olulungi gye luli. Mutambulire omwo, mulyoke mufune emirembe mu myoyo gyammwe.” Naye bo ne bagamba nti: “Tetujja kutambulira omwo.” Awo Mukama n'abateekako abakuumi, n'abagamba nti: “Muwulirize eddoboozi ly'eŋŋombe.” Naye bo ne bagamba nti: “Tetujja kuwuliriza.” Awo Mukama n'agamba nti: “Kale mmwe amawanga, muwulire, mumanye ekigenda okutuuka ku bantu bange. Wulira ggwe ensi. Nja kukola akabi ku bantu bano, olw'ebyo bye balowooza, kubanga tebatadde mwoyo ku bye mbagamba, n'amateeka gange bagagaanyi. Obubaane bwe bandeetera okuva e Seeba bugasa ki, wadde ebyakawoowo ebiva mu nsi ey'ewala? Ebirabo byabwe bye bampa ebyokebwa, sijja kubikkiriza, wadde okusanyukira ebitambiro byabwe. N'olwekyo nditeeka enkonge mu maaso g'abantu bano, ze balyekoonako ne bagwa. Bakitaabwe ne batabani baabwe, awamu ne mikwano gyabwe ne baliraanwa baabwe, balizikirira.” Mukama agamba nti: “Waliwo abantu abajja, nga bava mu nsi ey'omu bukiikakkono, eggwanga ekkulu eriva ewala. Bakutte emitego gy'obusaale, era n'amafumu. Bakambwe era tebalina kusaasira. Bawuuma ng'ennyanja, nga beebagadde embalaasi. Beetegekedde olutalo, okulwanyisa mmwe ab'omu Yerusaalemu.” Ab'omu Yerusaalemu ne bagamba nti: “Tuwulidde ebifa ku bantu abo, emikono ne gitusannyalala, ne tuwulira obubalagaze n'obulumi, ng'omukazi alumwa okuzaala. Tetuguma kufuluma kibuga kulaga mu byalo, wadde okutambula mu nguudo, kubanga abalabe baffe bakutte ebyokulwanyisa, era entiisa etwetoolodde.” Mukama agamba abantu be nti: “Mwambale ebikutiya, mwekulukuunye mu vvu. Mukungubage nnyo nnyini, ng'akungubagira mutabani we omu yekka, kubanga oyo ajja okuzikiriza, alibagwako bugwi nga temumanyi. “Yeremiya, nkutaddewo mu bantu bange, obageze olabe nga bwe bafaanana. Bonna bajeemu, abakakanyavu, abakalubo, ng'ekikomo era ng'ekyuma. Bagenda nga bawaayiriza, era bonna bakola bikyamu. Omuliro gwaka nnyo mu kabiga, ekyuma ne kisaanuuka, naye ebiteetaagibwamu tebyesengejjamu. Tekigasa kwongera okutukuza abantu bange, kubanga ababi tebaggyibwamu. Baliyitibwa masengere, kubanga Nze Mukama, mbasudde.” Awo Mukama n'ampa nze Yeremiya, obubaka, n'aŋŋamba nti: “Yimirira mu mulyango gw'Essinzizo, otegeeze abantu, obagambe nti: ‘Muwulire mmwe mwenna ab'omu Buyudaaya, abayingirira mu miryango gino okusinza Mukama. Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti mulongoose empisa zammwe n'ebikolwa byammwe. Bwe mulikola bwe mutyo, alibaleka ne mubeera mu kifo kino.’ Muleme kwesiga bigambo bino eby'obulimba ebiddiŋŋanibwa nti: ‘Tuli bulungi, Essinzizo lya Mukama weeriri, Essinzizo lya Mukama weeriri.’ “Mukyuse empisa zammwe n'ebikolwa byammwe. Mube benkanya mu nkolagana ne bannammwe. Mulemenga okuyiikiriza abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu. Mulekere awo okuttanga abantu abatalina musango ab'omu ggwanga lino. Mulekere awo okusinzanga balubaale, kubanga okubasinza, kuba kwerumya mmwe mwennyini. Olwo nja kubaleka mubeerenga mu nsi eno gye nawa bajjajjammwe ebeerere ddala yaabwe ennaku zonna. “Naye kale mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitalina mugaso. Mubba, mutemula, mwenda, mulayirira eby'obulimba, mwotereza lubaale Baali obubaane, era mussaamu ekitiibwa balubaale be mwali mutamanyi. Mukola ebyo byonna ebyenyinyalwa, olwo ne mujja muyimirira mu maaso gange, mu Ssinzizo lyange lyennyini, ne mugamba nti: ‘Tuli bulungi.’ Mulowooza nti Essinzizo lyange lifuuse mpuku eyeekwekebwamu abanyazi? Nze nzennyini ndabye kye mukola. Mugende e Siilo, ekifo kye nasooka okulonda okunsinzirizangamu, mulabe kye nakikola, olw'ebibi by'abantu bange Abayisirayeli. Mukoze ebibi bino byonna nga mbalabula emirundi n'emirundi, ne mugaana okuwulira, ne mbayita naye ne mutayitaba. Kale kye nakola Siilo, kye ndikola Essinzizo lyange lino lye mwesiga, ekifo kino kye nawa mmwe ne bajjajjammwe. Era ndibagoba mmwe mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, abantu ba Efurayimu. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama n'agamba nti: “Ggwe Yeremiya, tosabira bantu bano. Tompanjagira wadde okunneegayirira ku lwabwe, kubanga sijja kukuwuliriza. Tolaba bye bakola mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu? Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta, okufumba emigaati nga bagifumbira lubaale gwe bayita Nnaabakyala w'Eggulu. Era bafukira balubaale abalala ebyokunywa ebiweebwayo, okunsoomooza. Naye nno tebasoomooza Nze, wabula beesoomooza bo bennyini, ne beereetera okuswala. N'olwekyo Nze Mukama Katonda, ndiyiwa obusungu bwange n'ekiruyi kyange ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ne ku miti era ne ku bibala. Era obusungu bwange bulibuubuuka, nga tewali ayinza kubuziyiza.” Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Ebitambiro byammwe ebyokebwa nabyo mubyongere ku bitambiro byammwe ebirala, mulye ennyama yonna, kubanga bwe naggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri, saabawa biragiro bikwata ku biweebwayo ebyokebwa, ne ku bitambiro. Naye nabalagira kino nti: ‘Mumpulirenga. Nze nnaabanga Katonda wammwe, mmwe munaabanga bantu bange. Mukolerenga ku byonna bye mbalagira, mulyoke mube bulungi.’ Naye ne batawulira, era ne batassaayo mwoyo, wabula ne bagoberera amagezi gaabwe, era ne bakola ebyo emitima gyabwe emikakanyavu era emibi bye gyayagala. Mu kifo ky'okugenda mu maaso, ne badda emabega. Okuviira ddala ku lunaku bajjajjammwe lwe baaviirako mu nsi y'e Misiri n'okutuusa kati, mbadde sirekaayo kutuma gye muli abaweereza bange abalanzi. Naye ne mutawulira, era ne mutassaayo mwoyo. Ne mukakanyaza emitima gyammwe, era ne mukola ebibi okusinga bajjajjammwe. “Kale ggwe Yeremiya, olibategeeza ebigambo bino byonna, naye tebalikuwuliriza. Olibakoowoola, naye tebalikwanukula. Olibagamba nti eggwanga lyabwe terimpulira Nze Mukama Katonda waalyo, era tebakkiriza kuyigirizibwa. Amazima gazikiridde. Tebakyayagala wadde okugoogerako. “Mmwe ab'omu Yerusaalemu, musaleeko enviiri zammwe, muzisuule wala. Mutandike okukungubagira ku ntikko z'ensozi, kubanga Nze Mukama nsunguwadde, era nsudde abantu bange. Abantu b'omu Buyudaaya bakoze ebibi mu maaso gange. Baddidde balubaale be nkyawa, ne babateeka mu Ssinzizo lyange ne balyonoona. “Bazimbye ebifo ebigulumivu e Tofeti, mu kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro, kye sibalagiranga kukola, era ekitayingirangako mu birowoozo byange. Kale ebiseera bijja kutuuka, nga tekikyayitibwa Tofeti oba Ekiwonvu kya mutabani wa Hinnomu, naye Ekiwonvu ky'Ettambiro, kubanga balikiziikamu abafu, okutuusa nga tekikyalimu bbanga lya kuziikamu. Emirambo gy'abantu giriba mmere ya binyonyi na ya bisolo eby'omu ttale, era tewaliba abigoba. Mu bibuga bya Buyudaaya ne mu nguudo za Yerusaalemu, ndikomya amaloboozi g'abali mu binyumu ne mu kusanyuka, n'ag'abo abali ku mbaga ez'obugole, kubanga ensi erifuuka matongo. “Mu biro ebyo amagumba ga bassekabaka n'ag'abakungu ba Buyudaaya, n'amagumba ga bakabona n'ag'abalanzi, n'ag'abantu abalala ab'omu Yerusaalemu, galiggyibwa mu ntaana zaabwe. Mu kifo ky'okugakuŋŋaanya ne gaziikibwa, galirekebwa kungulu ng'obusa. Baligaaliira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, abantu abo bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, bye beebuuzangako era bye baasinzanga. Abantu b'omu ggwanga lino ebbi abawonyeewo yonna gye baabasaasaanyiza, balyagala okufa okusinga okuba abalamu. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde.” Awo Mukama n'andagira okugamba abantu nti: “Abantu bwe bagwa, tebayimuka nate? Omuntu bw'awaba, n'ayisa ekkubo, tadda mabega? Kale mmwe abantu bange, lwaki bulijjo muwaba ne munvaako? Mwesiba ku bya bulimba ne mugaana okudda gye ndi! Nawuliriza ne mpulira, naye temwayogera bya mazima. Tewali n'omu ku mmwe yeenenya bibi bye. Tewali yeebuuza nti: ‘Nkoze ki?’ Buli muntu yeeyongera kugenda mu maaso ng'embalaasi efubutuka okukaga mu lutalo. Wadde ne bissekanyolya bimanya ekiseera eky'okuddiramu. Enjiibwa n'obutaayi ne nnamunye bimanya ekiseera eky'okusengukiramu. Naye abantu bange tebamanyi mateeka Nze Mukama ge mbafugirako. Muyinza mutya okugamba nti: ‘Tuli bagezi, era ffe tulina amateeka ga Mukama,’ ng'abawandiisi bagawandiise bagakyamizza? Abagezi baswazibwa, bakwatibwa mu bigambo ne basekererwa. Nga bwe bagaanye ebigambo byange, magezi ki ge balina? Bakazi baabwe kyendiva mbagabira abasajja abalala, n'ennimiro zaabwe ne nziwa abantu abalala, kubanga bonna, ka babe bakulu oba bato, balulunkanira kufuna magoba mu bukumpanya. Wadde abalanzi ne bakabona, nabo balyazaamaanyi. Era ebiwundu by'abantu bange, babiwonya kungulu kwokka, ne bagamba nti: ‘Byonna biri bulungi,’ sso nga tebiri bulungi. Abantu bange bwe baamala okukola ebyo byonna ebyenyinyalwa, baawulira okuswala? Nedda tebaawulira kuswala n'akatono. Tebakyakwatibwa nsonyi. Kyebaliva bagwira awamu n'abo abagwa. Bwe ndibabonereza, eyo ye eriba enkomerero yaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde. “Nayagala okukuŋŋaanya abantu bange, ng'omuntu bw'akuŋŋaanya by'akungula, naye bali ng'omuzabbibu ogutaliiko mizabbibu, n'omutiini ogutaliiko mitiini. N'ebikoola biwotose. Kale ne bye nabawa, biribaggyibwako.” Abantu ba Mukama bagamba nti: “Lwaki tutuula obutuuzi? Mukuŋŋaane, tugende tuyingire mu bibuga ebiriko ebigo, tufiire eyo, kubanga Mukama Katonda waffe atuwaddeyo tufe. Atuwadde amazzi agalimu obutwa tunywe kubanga twakola ebibi ne tumunyiiza. Twasuubira okufuna emirembe, n'ekiseera eky'okuwonyezebwamu, naye ne wataba kalungi ke twafuna. Tuutuno twajjirwa entiisa. Abalabe baffe bamaze okutuuka mu kibuga ky'e Daani, tuwulira embalaasi zaabwe bwe zifugula. Bwe zikaaba, eddoboozi lyazo likankanya ensi. Bazze okuzikiriza ensi yaffe ne byonna ebigirimu, ekibuga kyaffe, n'abakibeeramu bonna.” Mukama agamba nti: “Mulabe, nsindika mu mmwe emisota, amasalambwa agatayinza kulogebwa, era galibaluma.” Nze Yeremiya zinsanze! Nga mbonyeebonye nnyo! Nfudde! Nsobeddwa obulamu bwange, omutima gwange gwennyamidde. Wulira mu ggwanga lyonna abantu bwe bayoogaana! Baleekaana nti: “Mukama takyali mu Siyooni? Kabaka waakyo takyakirimu?” Mukama n'abaddamu nti: “Lwaki munsunguwaza nga musinza ebyo mwennyini bye mwekolera, nga muvuunamira balubaale?” Abantu baleekaana nti: “Amakungula gayise, naye eŋŋaano tekuŋŋaanye.” Nnumwa nnyo olw'abantu bange ababonaabona! Nnakuwadde era nnennyamidde! Teri ddagala mu Gileyaadi? Tekyaliyo musawo? Kale kiki ekirobedde abantu bange okuwona? Singa omutwe gwange kidiba kya mazzi, nga n'amaaso gange luzzi lwa maziga, ne nkaaba ekiro n'emisana olw'abantu bange abattiddwa! Singa mbadde n'akafo akabeerekamu mu ddungu, nandivudde mu bantu bange ne ŋŋenda mbeera eyo, kubanga bonna tebeesigwa, kibiina ky'abantu ab'enkwe! Bulijjo beetegefu okulimba. Si mazima wabula bulimba bwe bufuga mu ggwanga. Mukama agamba nti: “Abantu bange beeyongera kukola bibi, era tebammanyi Nze!” Buli muntu yeekuume munne, tewaba yeesiga muganda we, kubanga buli waaluganda yeefuukira muganda we, era buli muntu awaayiriza mikwano gye. Era balimbagana, tewali ayogera mazima. Beeyigirizza okulimba, era tebalekaayo kwonoona. Beeyongera kukola bya bukambwe, na kwogera bya bulimba. Mukama agamba nti: bagaanye okumumanya. Mukama Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Ndibasaanuusa ng'ekyuma, ne mbageza. Kale mbakole ntya, abantu bange? Olulimi lwabwe, ke kasaale akatta. Lwogera bya bulimba. Buli omu ayogera bya mirembe ne munne, kyokka ng'ategeka kumutega mutego. Siribabonereza olw'ebyo? Siryemalira kiruyi ku ggwanga eriri ng'eryo? Nze Mukama, Nze njogedde.” Ne ŋŋamba nti: “Nja kukaaba amaziga nga nkungubagira ensozi n'amalundiro, kubanga gakaze. Tewakyali agayitamu. Okuŋooŋa kw'ente tekukyawulirwa. Ebinyonyi n'ebisolo bidduse, bigenze.” Mukama agamba nti: “Ndifuula Yerusaalemu entuumu y'ebisasiro, era ekisulo ky'ebibe. Ebibuga by'omu Buyudaaya birifuuka matongo, nga tewakyali abibeeramu.” Ne mbuuza nti: “Mukama, lwaki ensi eyonoonese n'eba nkalu ng'eddungu, ne wataba agiyitamu? Ani omugezi ategeera kino? Ani gw'okitegeezezza akinnyonnyole abalala?” Mukama n'addamu nti: “Ekyo kiri bwe kityo, kubanga bavudde ku mateeka gange ge nabateerawo. Tebawulidde era tebakoledde ku bye nabagamba. Naye bakakanyazizza emitima gyabwe, ne bagoberera lubaale Baali, bajjajjaabwe gwe baabayigiriza. Kale Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, kyenva ŋŋamba nti: abantu bano ndibaliisa ebimera ebikaawa, era ndibanywesa amazzi agakaawa. Ndibasaasaanyiza mu mawanga bo bennyini ne bajjajjaabwe ge batamanyangako, era ndisindika amagye okubalwanyisa okutuusa lwe ndibazikiriza.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Mulowooze ku biriwo. Mutumye abakazi bajje abamanyi okukungubaga.” Abantu ne bagamba nti: “Banguwe batukubire ebiwoobe, tukaabe nnyo amaaso gatobe amaziga.” Eddoboozi liwulirwa nga lyogerera mu Siyooni nti: “Tuzikiridde! Tuswadde nnyo! Tuvudde mu nsi yaffe, amayumba gaffe gamenyeddwawo!” Ne ŋŋamba nti: “Mwe abakazi muwulire ekigambo kya Mukama, mutegereze ky'agamba. Muyigirize bawala bammwe okukuba ebiwoobe ne bannammwe, okukungubaga. Okufa kuyitidde mu madirisa gaffe, ne kuyingira mu nju zaffe. Kusanjaze abaana mu nguudo, n'abavubuka mu bifo ebya lukale. Emirambo gy'abantu gisuulibwa ng'entuumu y'obusa mu nnimiro. Giriba ng'ebinywa by'eŋŋaano ebirekeddwawo abakunguzi, ne wataba abiggyawo.” Mukama agamba nti: “Abagezi baleme kwenyumiriza olw'amagezi gaabwe, n'ab'amaanyi olw'amaanyi gaabwe, wadde abagagga olw'obugagga bwabwe. Naye buli eyeenyumiriza yeenyumirizenga olw'okumanya n'okutegeera nga ndi Mukama, akola ku nsi eby'ekisa, n'eby'obwenkanya n'ebituufu, kubanga ebyo bye binsanyusa. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Ekiseera kijja kutuuka, mbonereze bonna abakomole abeeyisa ng'abatali bakomole: ab'omu Misiri n'ab'omu Buyudaaya; ab'e Edomu n'ab'e Ammoni; ab'e Mowaabu n'ab'omu ddungu, abakomola ku nviiri zaabwe. Ab'amawanga ago gonna si bakomole. N'ab'eggwanga lyonna erya Yisirayeli, beeyisa ng'abatali bakomole.” Abayisirayeli, muwulire ebyo Mukama by'abagamba. Agamba nti: “Temuyiganga mpisa za ba mawanga malala. Temweraliikiriranga bubonero obutali bwa bulijjo, obulabikira ku ggulu, ab'amawanga amalala ne bwe babweraliikirira, kubanga empisa z'ab'amawanga ago, teziriiko kye zigasa. Omuntu atema omuti mu kibira, omufundi n'agubajja bulungi. Ne bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu, ne bagukomerera n'emisumaali okugunyweza, guleme kusagaasagananga. Ebifaananyi eby'engeri eyo, biri ng'ebyo bye bateeka mu nnimiro okukanga ebinyonyi, era tebiyinza kwogera. Babisitula busituzi, kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga, kubanga tebiyinza kubakolako kabi, wadde okubakolera akalungi.” Tewali ali nga ggwe, ayi Mukama. Oli mukulu. Erinnya lyo kkulu, era lya buyinza. Ani atasaanye kukussaamu kitiibwa, ggwe Kabaka w'amawanga? Ogwanira okussibwamu ekitiibwa, kubanga mu bagezi bonna abali mu mawanga, ne mu bakabaka baabwe bonna, tewali ali nga ggwe. Bonna bonna babuyabuya, era basirusiru, abayigira eby'obusiru ku bifaananyi byabwe eby'emiti. Ebifaananyi ebyo, babibikkako ffeeza eyaweesebwa n'aba wa luwewere, gwe baggya e Tarusiisi, ne zaabu gwe baggya e Yufazi, akoleddwa abakugu. Babyambaza engoye eza kakobe n'emmyufu, ezikoleddwa abalusi b'engoye abakugu. Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima. Ye Katonda Nnannyinibulamu, era Kabaka ow'emirembe gyonna. Bw'asunguwala, ensi ekankana. Amawanga tegayinza kugumira busungu bwe. Mubategeeze nti balubaale abataakola ggulu na nsi, balizikirizibwa ne baggweerawo ddala mu nsi. Mukama ye w'obuyinza, ye yatonda ensi. Amagezi ge, ge gaatereeza ebintu byonna era ge gaabamba eggulu. Ye bw'alagira, amazzi agali waggulu gawuluguma, era asitula ebire okuva mu nsonda z'ensi. Aleeta okumyansa mu nkuba, era aggya embuyaga mu mawanika ge. Abantu bonna basiruwadde, baweddemu amagezi. Abakola ebifaananyi ebya zaabu ensonyi zibakutte, kubanga ebifaananyi byabwe bya bulimba, temuli bulamu. Tebiriiko kye bigasa, bya bulimba bwereere. Birizikirizibwa ku olwo lwe birisalirwako omusango. Katonda wa Yakobo tali nga byo, kubanga ye yatonda byonna; era yalondamu Yisirayeli okuba eggwanga erirye ku bubwe. Mukama Nnannyinimagye lye linnya lye. Mmwe ab'omu Yerusaalemu, muzingiziddwa! Mukuŋŋaanye ebyammwe, kubanga Mukama agamba nti: “Mu kiseera kino, nja kugoba abantu mu nsi eno. Nja kubatuusaako obuyinike baboneebone.” Nga zitusanze okufumitibwa ebiwundu! Ebiwundu byaffe si bya kuwona! Naye tunaagamba ki? Buno bwe buyinike bwaffe, tuteekwa okubugumira. Eweema zaffe zoonooneddwa, emiguwa egizireega gikutuse. Abaana baffe batuvuddeko, tewali anaatuleegera weema, n'okuwanika entimbe mu zo! Abakulembeze basiruwadde obuteebuuza ku Mukama, kye kibaviirako okulemwa, be batwala ne basaasaana. Amawulire gaagano agazze: waliwo akasattiro ak'amaanyi akava mu nsi ey'ebukiikakkono, akanaafuula ebibuga bya Buyudaaya amatongo omusula ebibe! Mmanyi, ayi Mukama, ng'obulamu bw'omuntu tebuli mu buyinza bwe, era nga tewali ayinza kweruŋŋamya yekka. Tugolole, ayi Mukama, naye tokambuwala nnyo. Tobonereza na busungu, oleme kutusaanyaawo. Amawanga agatakusinza g'oba osunguwalira n'abantu abakweggyako, kubanga basse abantu bo, babasaanyirizzaawo ddala, ensi yaffe esigadde matongo! Awo Mukama n'aŋŋamba nze Yeremiya nti: “Wulira ebigambo by'endagaano eno. Gamba abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nkolimidde buli muntu atagondera bigambo bya ndagaano eno, gye nakola ne bajjajjaabwe, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri, eyali ebafuukidde ng'ekyoto eky'ekyuma ekyengeredde omuliro. Nabagamba nti: ‘Mumpulirenga era mukolenga bye mbalagira.’ Nabagamba nti bwe banampuliranga, banaabanga bantu bange, Nze ne mba Katonda waabwe. Olwo nnaatuukirizanga kye n'asuubiza bajjajjaabwe, nti ndibawa ensi engimu, era gye balimu kaakano.” Awo nze ne nziramu nti: “Weewaawo, ayi Mukama.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda olangirire bino byonna mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu, otegeeze abantu nti: ‘Muwulire ebigambo by'endagaano eno, era mubikolereko.’ Bwe naggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, nabakuutira okumpuliranga, era nkyabakuutira n'okutuusa kaakano. Naye tebawuliriza era tebawulira, wabula buli omu ayongera kugoberera mutima gwe omukakanyavu era omubi. Nabalagira okukuumanga endagaano eno, naye bo ne bagaana. Kyennava mbatuusaako ebibonerezo byonna ebyogerwako mu yo.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, banneekobera. Bazzeeyo mu bibi bya bajjajjaabwe, abaagaana okuwulira bye mbagamba. Bazze mu kuweereza balubaale. Ab'omu Yisirayeli, n'ab'omu Buyudaaya, bamenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe. Kale kaakano, Nze Mukama, kyenva mbalabula nti nja kubatuusaako akabi, ke batayinza kuwona. Bwe balinkaabirira okubayamba, siribawuliriza. Awo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, baligenda ne bakaabirira balubaale, be bootereza obubaane. Naye tebalisobola kubawonya mu biseera eby'obuyinike. Abantu b'omu Buyudaaya balina balubaale, abenkana ebibuga byabwe obungi. N'ab'omu Yerusaalemu, bazimbye alutaari ezenkana enguudo z'omu kibuga kyabwe obungi, nga za kwoterezaako bubaane eri Baali, lubaale eyeenyinyalwa. Kale ggwe Yeremiya, tosabira bantu bano, wadde okwegayirira ku lwabwe, kubanga bwe baliba mu buzibu ne bankoowoola, siribawuliriza. Abantu be njagala, bakoze ebibi. Bakyasaanira batya okubeera mu Ssinzizo lyange? Obweyamo n'ebitambiro eby'ensolo binaabayamba? Olwo lwe banaasanyuka? Waliwo lwe nabayitanga omuti omuzayiti oguliko amakoola amalungi, n'ebibala ebirungi. Naye kaakano, nja kubwatuka nga laddu, ngukumeko omuliro, amatabi gaagwo gaggye. Nze Mukama Nnannyinimagye eyasimba ab'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya, Nze nnangiridde akabi akajja okubatuukako. Be bakeeretedde bennyini, kubanga bakoze ebibi. Bansunguwazizza, olw'okwotereza Baali obubaane.” Awo Mukama n'ammanyisa enkwe ze bakoze okunzita. Nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu, ogutwalibwa, nga simanyi nti nze basalidde enkwe, nga bagamba nti: “Tuteme omuti nga gukyali mulamu. Tumutte, waleme kubaawo bongera kumujjukira.” Naye, ayi Mukama Nnannyinimagye, ggwe mulamuzi omwenkanya, ageza ebirowoozo n'emitima gy'abantu. Ggwe nkwasizza ensonga zange. Ka nninde ndabe bw'owoolera eggwanga ku bantu bano. Bino Mukama by'agamba ab'omu Anatooti, abaagala okunzita, nga bagamba nti: “Bw'onoolagula ku lwa Mukama, tujja kukutta.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Nja kubabonereza. Abavubuka baabwe balittirwa mu lutalo, abaana baabwe abalenzi n'abawala balifa enjala. Ntaddewo ekiseera kye ndituusizaako abantu b'omu Anatooti akabi, era ekiseera ekyo bwe kirituuka, ku bo tekuliba awonawo n'omu. Nze Mukama, Nze njogedde.” Singa mpakana naawe, ggwe obeera omutuufu. Naye era ka njogereko naawe ku bwenkanya bwo. Lwaki ababi bali bulungi? Lwaki abakumpanya bali mirembe? Wabasimba ne bamera, ne beeyongera okukula era ne babala ebibala. Bakwogerako bulijjo, naye tebakufaako Naye nze ommanyi, ayi Mukama. Olaba bye nkola, era omanyi bwe nkwagala. Sika abantu abo ng'endiga ez'okusalibwa. Bakuume butiribiri okutuusa ku lunaku olw'okuttirwako. Ensi erituusa wa okukala n'omuddo gwonna okuwotoka? Ebisolo n'ebinyonyi bifa olw'obubi bw'abantu baffe. Ate bo nga bagamba nti: “Katonda talaba bye tukola.” Mukama agamba nti: “Yeremiya, oba ng'oddukidde wamu n'ab'ebigere n'okoowa, kale onoosobola otya okuddukira awamu n'abali ku mbalaasi? Oba tosobola kuyimirira watereevu, olikola otya mu lusaalu lwa Yorudaani? Baganda bo bennyini n'ab'ekika kyo, bakuliddemu olukwe, nabo beetabye n'abakuyigganya. Tobakkiriza ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.” Mukama agamba nti: “Njabulidde Yisirayeli, ndese eggwanga lye nalondamu. Abantu be njagala ennyo mbawaddeyo mu mikono gy'abalabe. Abantu bange be nalondamu banfuukidde ng'empologoma mu kibira: bamboggoledde, kyenvudde mbakyawa. Abantu bange be nalondamu bali ng'ekinyonyi ekirumbiddwa kamunye erudda n'erudda. Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu ttale muzireete zirye. Abafuzi bangi boonoonye ennimiro yange ey'emizabbibu, balinnyiridde obulime bwange. Ensi yange ennungi bagifudde ddungu nga tekyalimu bantu. Bagifudde matongo, ensiko obusiko gye ntunulako. Ensi yonna efuuse matongo, naye tewali afaayo! Abanyazi batalaaze ensozi zonna eziri mu ddungu. Nze Mukama nsindise olutalo okuzikiriza ensi eyo yonna. Tewali n'omu alina emirembe. Baasiga eŋŋaano, bakungudde maggwa. Bateganye nnyo, ne batafunamu mugaso. Olw'obusungu bwange obungi, ebirime byabwe bifudde.” Mukama agamba nti: “Nnina kye ŋŋamba ku baliraanwa ba Yisirayeli, abaayonoona ensi gye nawa abantu bange Abayisirayeli. Abantu abo ababi ndibaggya mu nsi zaabwe ng'ekimera ekikuuliddwa, era ndiggya Buyudaaya mu mikono gyabwe. Naye bwe ndimala okubaggya mu nsi zaabwe, ndiddamu okubakwatirwa ekisa. Ndikomyawo buli ggwanga mu kitundu kyalyo, ne mu nsi yaalyo. Ate bwe balinyiikira okuyiga empisa z'abantu bange, ne balayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu,’ nga bwe baayigiriza abantu bange okulayiranga lubaale Baali, olwo baliba kitundu kya bantu bange. Naye eggwanga eririgaana okuwulira, ndiriggyirawo ddala, ne ndizikiriza. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda weegulire ekimyu eky'olugoye, okyesibe mu kiwato, naye tokyozaamu.” Awo ne ngula ekimyu, ne nkyesiba mu kiwato. Awo Mukama n'aŋŋamba omulundi ogwokubiri nti: “Ddira ekimyu kye wagula, era kye weesibye mu kiwato, ogende okikweke mu lwatika lw'olwazi, ku Mugga Ewufuraate.” Ne ŋŋenda ne nkikweka okumpi n'Omugga Ewufuraate, nga Mukama bwe yandagira. Awo olwatuuka, nga wayiseewo ebbanga ddene, Mukama n'aŋŋamba nti: “Situka ogende ku Ewufuraate, oggyeyo ekimyu kye nakulagira okukwekayo.” Awo ne ŋŋenda ku Ewufuraate, ne nsima, ne nzigyayo ekimyu, mu kifo mwe nali nkikwese, ne nsanga nga kyonoonese, tekikyaliko kye kigasa. Awo n'aŋŋamba nti: “Bwe ntyo bwe ndizikiriza okwekulumbaza kwa Buyudaaya, n'okwekulumbaza kwa Yerusaalemu. Abantu abo ababi, baagaana okuwulira bye mbagamba. Baagoberera obukakanyavu bw'emitima gyabwe, ne basinza era ne baweereza balubaale. Kale baliba ng'ekimyu ekyo, ekitakyaliko kye kigasa. Ng'ekimyu bwe kyekwatira ddala ku kiwato ky'omuntu, bwe kityo bwe nayagala abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya okwekwatira ddala ku Nze, balyoke babenga bantu bange, baleetere erinnya lyange ettendo n'ekitiibwa. Naye ne batayagala kuwulira.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, gamba abantu b'omu Yisirayeli nti: ‘Buli kita kijjuzibwa omwenge.’ Bajja kukuddamu nti: ‘Tetumanyi nga buli kita kijjuzibwa omwenge?’ Awo n'olyoka obagamba nti Nze Mukama mbagambye nti abatuuze b'omu nsi eno bonna, kwe kugamba bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, bakabona n'abalanzi, n'abantu b'omu Yerusaalemu bonna, ndibajjuza omwenge batamiire. Olwo ndyoke mbaaseeyase nga mbatomereganya bonna, abato n'abakulu. Sirisaasira, sirisonyiwa wadde okukwatirwa ekisa, wabula okubazikiriza.” Mukama ayogedde, muleme kwekulumbaza. Muwulire, musseeyo omwoyo. Muwe ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, nga tannaleeta kizikiza, ne mwekoona ku nsozi, era nga n'ekitangaala kye musuubira, tannakifuula nzikiza ekutte. Bwe munaagaana okuwulira, nja kukaabira mu kyama olw'okwekulumbaza kwammwe. Nja kukaaba nnyo nkulukuse amaziga, kubanga abantu ba Mukama batwaliddwa nga basibe. Mukama n'aŋŋamba nti: “Gamba kabaka ne nnamasole nti: ‘Muwanuke ku ntebe zammwe, kubanga engule zammwe ennungi zivudde ku mitwe gyammwe.’ Ebibuga eby'omu bukiikakkono bizingiziddwa, tewali ayinza kuwaguza kubituukako. Abantu b'omu Buyudaaya bonna batwaliddwa nga basibe.” Yerusaalemu, laba! Abalabe bo bajja, nga bava mu bukiikakkono. Abantu bo abaakukwasibwa okulabirira, abantu bo abakweyagaza baluwa? Oligamba otya, ng'abo be wayitanga mikwano gyo bakuwangudde, era nga be bakufuga? Toliba mu buyinike ng'omukazi alumwa okuzaala? Weebuuza akabi ako konna kyekavudde kakutuukako, ne bakubikkula engoye zo, ne bakuwemula? Kakutuuseeko kubanga ekibi kyo kinene nnyo. Omuntu omuddugavu ayinza okukyusa langi y'olususu lwe? Oba engo okukyusa amabala gaayo? Oba ekyo kisoboka, kale nammwe, abaamanyiira okukola ebibi, muyinza okukola ebirungi! Mukama kyaliva abasaasaanya mmwe, ng'empewo eva mu ddungu bw'esaasaanya ebisusunku. Agambye nti ekyo kye kiribatuukako. Ekyo ky'asazeewo okubakolako mmwe, kubanga mumwerabidde, ne mwesiga balubaale. Mukama alibabikkula engoye zammwe, ne muswala. Yabalaba nga mukola eby'ensonyi by'akyawa. Mwagenda eri balubaale mu nsozi ne mu ttale, ne muba ng'abenzi n'abakaba. Zibasanze, mmwe abantu b'omu Yerusaalemu! Mulibeerako ddi abalongoofu? Awo Mukama n'antegeeza ebifa ku kyeya nti: “Obuyudaaya buli mu kukungubaga: ebibuga byabwo biwuubadde. Abantu baabwo batuula ku ttaka nga banakuwadde. Yerusaalemu kitema miranga. Abakungu batuma abaweereza baabwe emugga, ne batuuka ku nzizi ne baddayo eka ng'ensuwa nkalu. Ensonyi zibakwata ne beebikka ku maaso nga baswadde. Abalimi basobeddwa! Babikka ku maaso nga baswadde, kubanga enkuba tekyatonnya, era ettaka likaze. N'empeewo ereka ku ttale omwana gwayo gw'ezadde, kubanga tewali muddo. N'entulege ziyimirira ku nsozi okutakyali muddo ne ziwankawanka ng'ebibe, nga teziraba bimera bye zirya.” Wadde ebibi byaffe bitulumiriza, tuyambe, ayi Mukama, nga bwe watusuubiza. Twakuvaako emirundi mingi, twakola ebibi ebikunyiiza. Ggwe essuubi ly'abantu ba Yisirayeli ggwe abaggya mu biseera ebizibu, lwaki oba ng'omuyise mu nsi eno, ng'omutambuze asula olumu? Lwaki oli ng'omuntu asamaaliridde, ng'omuzira atayinza kutaasa? Naye, ayi Mukama, oli wakati mu ffe. Tuli babo, totwabulira. Abantu bano, Mukama aboogerako bw'ati nti: “Banyumirwa okunvaako, era tebeefuga. Kyenva sibasanyukira. Nja kujjukira ensobi zaabwe, mbabonereze olw'ebibi byabwe.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Tosabira bantu bano kuweebwa birungi. Ne bwe banaasiiba, sijja kuwuliriza bye basaba. Ne bwe banampa ebitambiro n'ebirabo, sijja kubasanyukira, wabula nja kubazikiriza mu lutalo era mbasse enjala n'endwadde.” Awo ne ŋŋamba nti: “Mukama Katonda, kino kitalo! Abalanzi bategeeza abantu nti tebaliba na lutalo wadde enjala, kubanga wabakakasa kubawa mirembe mu nsi eno.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Abalanzi balagula bya bulimba nga bajuliza erinnya lyange. Sibatumanga era sibalagiranga, wadde okwogera nabo. Okulabikirwa kwe boogerako, tekwava gye ndi. Ne bye balagula, bye bintu ebitagasa, bye beefaanaanyiriza obwefaanaanyiriza mu mitima gyabwe. Nze Mukama, nkutegeeza kye ŋŋenda okukola abalanzi abo be situmanga, naye ne balagula nga bajuliza erinnya lyange, ne bagamba nti olutalo n'enjala tebiriba mu nsi eno. Ndibattira mu lutalo, era ndibassa enjala. N'abantu be balagula, balittibwa mu ngeri ye emu. Emirambo gyabwe, wamu n'egya bakazi baabwe, n'egya batabani baabwe era n'egya bawala baabwe, girigwa mu nguudo z'omu Yerusaalemu, ne wataba agiziika, bwe ntyo mbasasuze olw'ebibi byabwe.” Awo Mukama n'andagira ntegeeze abantu obuyinike bwabwe, mbagambe nti: “Amaaso gange gakulukuta amaziga emisana n'ekiro, nneme kulekayo kukaaba maziga, kubanga abantu bange bafumitiddwa ebiwundu binene, era balumiziddwa nnyo. Bwe ntambulako mu ttale, nsangayo emirambo gy'abo abattiddwa mu lutalo. Bwe nnyingira mu kibuga, ndaba abafa enjala. Abalanzi ne bakabona batwalibwa mu nsi, gye batamanyi n'akatono.” Ayi Mukama, ab'omu Buyudaaya obasuulidde ddala? Ab'omu Yerusaalemu obakyaye? Otufumitidde ki bw'otyo, ne tutasobola kuwonyezebwa? Twasuubira emirembe, ne wataba kalungi ke tufuna. Twasuubira okuwonyezebwa, ne tujjirwa kikangabwa. Twakola ebibi ne tukunyiiza, tukkirizza ebibi byaffe n'ebibi bya bajjajjaffe. Jjukira bye wasuubiza oleme kutusuula. Toswaza Yerusaalemu, ekifo eky'entebe yo eyeekitiibwa. Tomenya ndagaano gye wakola naffe. Mu balubaale b'amawanga, tewali ayinza kutonnyesa nkuba. N'eggulu ku bwalyo, teriyinza kuleeta luwandaggirize. Twesiga ggwe, ayi Mukama Katonda, kubanga ggwe okola ebyo byonna. Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Musa ne Samweli ne bwe bandiyimiridde mu maaso gange ne beegayirira, era sandikwatiddwa bantu bano kisa. Bagobe mu maaso gange bagende. Bwe bakubuuza nti: ‘Tugende, tulage wa?’ Bategeeze nti Mukama agambye nti: ‘Ab'okufa kawumpuli, bagende eri kawumpuli. Ab'okufiira mu lutalo, bagende eri olutalo. Ab'okufa enjala, bagende eri enjala. Ab'okutwalibwa mu busibe bagende mu busibe.’ Nze Mukama mbateereddewo engeri nnya ez'okubazikiriza: okufiira mu lutalo n'okutaagulwa embwa, okubojjogolwa ebinyonyi, n'okukavvulwa ebisolo eby'omu ttale. Ndibafuula ekyekango eri abantu bonna ku nsi, olw'ebyo Manasse mutabani wa Heezeekiya bye yakola mu Yerusaalemu, nga ye kabaka wa Buyudaaya.” Mukama agamba nti: “Ggwe Yerusaalemu, alikusaasira ani? Wadde alikyama ani abuuze ggwe bw'oli? Ggwe waŋŋaana n'onkuba amabega. Kyenvudde nkugololera omukono ne nkuzikiriza. Nkooye okusaasira. Mu buli kibuga mu nsi eno mmwe abantu bange nabawewa ng'ebisusunku. Natta abaana bammwe ne mbazikiriza mmwe, kubanga mwalemera mu mpisa zammwe embi. Bannamwandu mu nsi yammwe bangi okusinga omusenyu ku lubalama lw'ennyanja. Nattira abavubuka bammwe mu maanyi, bannyaabwe ne balumwa. Nabatuusaako obuyinike n'entiisa nga tebamanyiridde. Eyazaala abaana omusanvu azirise, obulamu bumuggwaamu! Obudde bwe obw'emisana bumufuukidde bwa kiro. Akwatiddwa ensonyi, aswadde! Ndireka abalabe bammwe ne batta nammwe abakyali abalamu. Nze Mukama, Nze njogedde.” Nga zinsanze nze! Mmange yanzaalira ki? Ndi wa kuyomba na kuwakana na buli omu ku nsi? Siwolanga nsimbi era tewali yali ampoze, naye buli muntu ankolimira. Kale ayi Mukama, ebikolimo byabwe bituukirire bwe mba nga saakuweereza bulungi, era bwe mba nga saasabira mulabe wange ng'ali mu buzibu ne mu buyinike. Tewali ayinza kumenya kyuma naddala ekyuma ekiva mu nsi y'ebukiikakkono, ekitabuddwamu ekikomo. Mukama n'aŋŋamba nti: “Ebintu n'obugagga eby'abantu bange, nja kubiwaayo binyagibwe, olw'ebibi bye bakoze mu ggwanga lyonna. Ndibafuula baddu ba balabe baabwe, mu nsi gye batamanyi, kubanga obusungu bwange, bwaka ng'omuliro, era tegujja kuzikira.” Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, ggwe omanyi. Nzijukira onnyambe, owoolere eggwanga ku abo abangigganya. Tobagumiikiriza, kubawa budde bwa kunzita. Jjukira nga nvumibwa ku lulwo. Wayogera nange, ne mpuliriza buli kigambo. Ndi wuwo, ayi Mukama, Katonda Nnannyinimagye. Ebigambo byo kyebyava bireetera omutima gwange essanyu n'okujaganya. Saatuula na bantu balala mu kusanyuka ne mu binyumu. Naye nga bwe wandagira, natuula nzekka nga nzijudde obusungu. Lwaki mba mu bulumi obw'olubeerera? Lwaki ekiwundu kyange tekiwona? Lwaki kisamba eddagala? Onfuukidde kagga akateesigwa akaggwaamu amazzi mu kyeya?” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Bw'olidda gye ndi, ndikuzza ku mulimu n'oddamu okumpeerezanga. Bw'onoova ku kwogera ebitagasa, n'oyogera eby'omugaso, oliddamu okwogera ku lwange. Abantu balidda gy'oli n'oteetaaga kugenda gye bali. Ndikufuula ekisenge eky'ekikomo gye bali. Balikulwanyisa, naye tebalikuwangula. Ndi wamu naawe okukukuuma n'okukuwonya. Ndikutaasa obuyinza bw'ababi, era ndikuwonya abakambwe. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama era n'ayogera nange, n'agamba nti: “Towasa mukazi, era tozaala baana mu kifo nga kino. Nja kukutegeeza ebirituuka ku baana abazaalibwa wano, ne ku bazadde baabwe. Balifa endwadde embi ennyo. Tebalikungubagirwa, era tebaliziikibwa. Emirambo gyabwe girigalamira ku ttaka, ne giba ng'entuumu y'obusa. Balittirwa mu lutalo, oba okuttibwa enjala, emirambo gyabwe ne giba emmere y'ebinyonyi, n'ebisolo eby'omu ttale. “Toyingira mu nnyumba mwe bakungubagira. Tokaabira muntu n'omu. Abantu bange mbaggyeeko emirembe gye nali mbawadde, sikyabaagala, era sikyabakwatirwa kisa. Abagagga n'abaavu balifiira mu nsi eno, naye tewaliba abaziika, wadde abakungubagira. Tewaliba yeesala misale, wadde yeemwa nviiri ku lwabwe. Tewaliba awa munne kyakulya, okumukubagiza ng'afiiriddwa, wadde okumuwa ekyokunywa, ne bw'aliba ng'afiiriddwa kitaawe oba nnyina. “Era toyingira mu nnyumba mwe baliira mbaga, okutuula nabo okulya n'okunywa. Wulira Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli kye ŋŋamba. Nga nammwe mukyali balamu, era nga mulaba, ŋŋenda kukomya mu kifo kino amaloboozi ag'ekinyumu n'okusanyuka, nsirise amaloboozi g'abawasa abagole, n'ag'abagole. “Bw'onootegeeza abantu ebigambo bino byonna, bajja kukubuuza nti: ‘Lwaki Mukama alangiridde nti akabi akanene bwe katyo kajja kututuukako? Tuzzizza musango ki, era tukoze kibi ki ekinyiizizza Mukama Katonda waffe?’ Awo ggwe ojja kubagamba nti Mukama agamba nti: ‘Bajjajjammwe banvaako, ne basinza era ne baweereza balubaale. Nze bansuula, ne batakwata mateeka gange. Naye mmwe mukoze ebibi okusinga ne bajjajjammwe. Buli omu mu mmwe mukakanyavu wa mutima, era mubi, era tampulira. Kyendiva mbagoba mu nsi eno, ne mbasuula mu nsi gye mutamanyi, era ne bajjajjammwe gye bataamanya. Eyo gye munaaweererezanga balubaale ekiro n'emisana, era ndiba sikyabakwatirwa kisa n'akatono.’ ” Mukama agamba nti: “Ekiseera kijja kutuuka, mube nga temukyandayira nga Katonda Nnannyinibulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri. Naye banandayiranga nga Katonda Nnannyinibulamu, eyakomyawo abantu ba Yisirayeli okuva mu nsi ey'omu bukiikakkono, ne mu nsi endala zonna gye nabasaasaanyiza, ne mbakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Ŋŋenda okutumya abavubi bangi bajje bavube abantu bano. Oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, babayigge ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu mpuku ez'omu njazi. Buli kye bakola nkiraba. Tewali kinkisibwa. N'ebibi byabwe tebikwekeddwa mu maaso gange. “Ndibasasuza emirundi ebiri olw'omusango gwabwe n'olw'ekibi kyabwe, kubanga boonoonye ensi yange, nga bagijjuza ebifaananyi ebyo bye basinza, ebiri ng'emirambo, era nga bagijjuza balubaale.” Mukama, ggwe onkuuma, era ggwe ompa amaanyi. Ggwe onnyamba mu biseera ebizibu. Ab'omu mawanga mu buli nsonda y'ensi, balijja gy'oli, ne bagamba nti: “Bajjajjaffe baalina bya bulimba bwereere ebitaliimu magoba, era ebitalina mugaso. Omuntu ayinza okwekolera Katonda? Nedda. Bw'amwekolera, oyo taba Katonda.” Mukama agamba nti: “Kale abo ndibamanyisiza ddala obuyinza bwange n'amaanyi gange. Balimanya nga Nze Mukama.” Mukama agamba nti: “Mmwe abantu b'omu Buyudaaya, ekibi kyammwe kiwandiikiddwa n'ekkalaamu ey'ekyuma, kyoleddwa ku mitima gyammwe n'ejjinja ery'omuwendo essongovu, ne ku nsonda z'alutaari zammwe. Asera, lubaale omukazi, abantu bammwe bamusinza ku alutaari, ne ku bubonero bwe obwateekebwa mu buli muti omubisi, ne ku busozi, ne ku nsozi eziri mu ttale. Abalabe bammwe ndibagabula ebintu byammwe n'obugagga bwammwe, okubasasuza olw'ebibi bye mwakola mu nsi yammwe yonna. Muliteekwa okuwaayo ensi yammwe gye nabawa, era muliweereza abalabe bammwe mu nsi gye mutamanyi, kubanga mukoleezezza omuliro mu busungu bwange, obunaabuubuukanga olubeerera.” Mukama agamba nti: “Zimusanze oyo anvaako ne yeesiga era ne yeeyinula omuntu obuntu. Afaanaanyirizibwa n'omuti oguli mu ddungu, ogukulira awakalu mu lunnyo awatali kirala kikulirawo. Tagenda kutuukibwako birungi. “Naye wa mukisa oyo anneesiga Nze Mukama, era asuubira mu Nze. Afaanaanyirizibwa n'omuti ogwasimbibwa okumpi n'omugga, emirandira gyagwo ne gikula nga gidda eri amazzi. Tegulitya musana ne bwe gwaka ennyo. Ebikoola byagwo bisigala biddugazza. Tegulina kye gweraliikirira mu biseera eby'ekyeya: tegulekaayo kubala bibala. “Ani ayinza okutegeera omutima gw'omuntu? Teri kirimbalimba nga gwo. Mubi gwa lubeerera. “Nze Mukama mmanya buli muntu ky'alowooza mu mutima gwe. Buli omu mbaako kye mmuwa, okusinziira ku bikolwa bye.” Omuntu afuna obugagga ng'ayita mu bukumpanya, aba ng'enkwale eyalula amagi g'etaabiika. Obugagga obwo bulimuggwaako nga tannakaddiwa, ne yeeraga bw'ali omusirusiru. Essinzizo lyaffe liri ng'entebe eyeekitiibwa, eyateekebwa awagulumivu okuviira ddala mu kusooka. Ayi Mukama, ggwe ssuubi lya Yisirayeli. Bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi. Amannya g'abo bonna abakusenguka galiwandiikibwa mu nfuufu, kubanga bakuvuddeko ggwe Mukama, oluzzi olw'amazzi amalungi. Ayi Mukama, mponya mbeere bulungi. Ndokola, ndokolerwe ddala, kubanga ye ggwe gwe ntendereza. Abantu baŋŋamba nti: “Mukama bye yayogera biruwa? Kale bituukirire!” Naye ayi Mukama, sikufukuutiriranga kubatuusaako kabi. Sibaagalizanga kiseera kya kubonaaboneramu. Mukama, ekyo okimanyi. Bye nayogera obimanyi. Tonfuukira ntiisa, ggwe kiddukiro kyange mu biseera ebizibu. Abangigganya be baba bakwatibwa ensonyi, naye si nze. Be baba beeraliikirira, naye si nze. Obatuuseeko akabi, obakutulemu ebitundu. Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, genda olangirire obubaka bwange ku Mulyango gw'Abantu, bakabaka ba Buyudaaya gwe bayitamu okuyingira n'okufuluma ekibuga. Era okole bw'otyo ne ku miryango emirala gyonna egya Yerusaalemu. Tegeeza bakabaka n'abantu bonna ab'omu Yerusaalemu abayingirira mu miryango gino, bawulire kye ŋŋamba. Bategeeze nti oba nga baagala obulamu bwabwe, beekuume, baleme kusitula migugu ku Sabbaato, era baleme kugiyisanga mu miryango gya Yerusaalemu, wadde okufulumyanga omugugu mu nnyumba zaabwe ku Sabbaato. Balemenga kukola mirimu ku Sabbaato. Naye batukuzenga olunaku lwa Sabbaato, nga bwe nalagira bajjajjaabwe. Bajjajjaabwe tebaawulira era tebaafaayo, naye baakakanyaza emitima gyabwe, ne bagaana okumpulira n'okukwata bye mbayigiriza. Tegeeza abantu bano nti bateekwa okuwulira ebiragiro byange byonna. Balemenga kwetikka migugu, kugiyisa mu miryango gya kibuga. Bateekwa okutukuzanga olunaku lwa Sabbaato, n'obutalukolerangako mirimu n'akatono. Olwo bakabaka baabwe n'abalangira banaayitanga mu miryango gy'ekibuga kino, era banaabeeranga n'obuyinza nga Dawudi bwe yalina. Awamu n'abantu b'omu Buyudaaya, n'ab'omu Yerusaalemu banaatambuliranga mu magaali era baneebagalanga embalaasi, era ekibuga Yerusaalemu kinaabangamu abantu bulijjo. Abantu banaavanga mu bibuga bya Buyudaaya ne mu miriraano gya Yerusaalemu, era banaavanga mu kitundu kya Benyamiini, ne mu kitundu eky'ensenyi, ne mu nsozi, ne mu bukiikaddyo obwa Buyudaaya, ne bajja mu Ssinzizo, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'ekitambiro n'ebirabo eby'emmere ey'empeke, n'obubaane, nga beebaza. Naye bateekwa okumpulira n'okutukuza olunaku lwa Sabbaato. Mbagaanye okuyitanga mu miryango gya Yerusaalemu nga balina emigugu ku Sabbaato. Bwe balikikola ekyo kye mbagaanye, emiryango egyo ndigiteekera omuliro. Gulyokya amayumba g'omu Yerusaalemu, era tegulizikizibwa.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Situka oserengete ew'omubumbi, era eyo gye nnaakuweera obubaka bwange.” Awo ne nserengeta ew'omubumbi, ne nsanga ng'akolera ku nnamuziga ze. Kye yabumbanga bwe kyayonoonekanga, ng'ebbumba lyakyo alibumbamu ekintu ekirala. Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, Nze siyinza kubakolako ng'ekyo omubumbi ky'akola ku bbumba? Muli mu ngalo zange, ng'ebbumba bwe liri mu ngalo z'omubumbi. Singa mba ŋŋambye okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza eggwanga oba obwakabaka, naye eggwanga eryo ne likyuka, ne lirekayo okukola ebibi, sirikola kye mba ŋŋambye kukola. Ate singa mba ŋŋambye okusimba oba okuzimba eggwanga oba obwakabaka, naye eggwanga eryo ne litampulira era ne likola ebibi, sirikola kye mba ŋŋambye kukola. Kale kaakano, tegeeza abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti nteesezza okubakolako akabi, era nteekateeka okubabonereza. Bategeeze beenenye, buli omu ave mu mpisa ze embi. Balongoose empisa zaabwe n'ebikolwa byabwe. Naye bajja kukuddamu nti: ‘Nedda, tetujja kukyuka n'akatono. Tujja kukola kye twagala era buli omu ajja kukola ekiri mu mutima gwe omukakanyavu era omubi.’ ” Mukama agamba nti: “Mubuuze mu mawanga. Eriyo eyali awulidde ekiri ng'ekyo? Abantu ba Yisirayeli bakoze eby'ekivve! Enjazi z'oku ntikko ya Lebanooni ziggweebwako omuzira? Amazzi amannyogovu agava mu nsozi eza Lebanooni galekayo okukulukuta? Naye abantu bange banneerabidde. Booterezza balubaale obubaane. Beesittadde mu makubo gaabwe ge baatambuliramu okuva edda, ne batambulira mu bisinde ne mu bukubo obuzise. Ensi yaabwe bagifudde ya ntiisa, era eneenyoomebwanga bulijjo. Buli muyise aneewuunyanga nga bw'anyeenya n'omutwe. Ndisaasaanya abantu bange mu maaso g'abalabe baabwe, ng'enfuufu bw'etwalibwa embuyaga eva mu buvanjuba. Nga bali mu buyinike, ndibakuba mabega, siribakyukira kubayamba.” Awo abantu ne bagamba nti: “Mujje tubeeko kye tukola ku Yeremiya. Bwe tumuggyawo, tewaabulengawo kabona kutuyigirizanga, n'omuntu omugezi okutubuuliriranga, wadde omulanzi okutuwanga obubaka bwa Katonda. Mujje tumusibeko emisango, era tulekere awo okuwuliriza by'agamba.” Awo ne nsaba nti: “Ayi Mukama, wulira bye ŋŋamba. Wulira abalabe bange bye banjogerako. Ekirungi kisasulwamu kibi? Basimye obunnya nga baagala ngweemu. Jjukira bwe nayimirira mu maaso go, ayi Mukama, ne mbawolereza oleme kubasunguwalira. Kale kaakano, ayi Mukama, leka abaana baabwe bafe enjala. Leka battirwe mu lutalo. Abakazi basigale nga tebalina baana, era bafiirwe babbaabwe. Abasajja bafe endwadde, abavubuka bafiire mu lutalo. Basindikire ekibinja ky'abanyazi kigende kinyage ebyabwe, nga tebamanyiridde, emiranga giryoke giwulirwe mu mayumba gaabwe, kubanga basimye obunnya nga baagala ngweemu, era bateze emitego nga baagala ginkwase. Naye, ayi Mukama, omanyi enkwe zaabwe. Tobasonyiwa kibi kyabwe, era tobaggyaako musango. Bamegge mu maaso go, obakoleko ng'obasunguwalidde.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, genda ogule ensumbi ey'ebbumba, otwale abamu ku bantu abakulu mu ggwanga, n'abamu ku bakabona abakulu, ofulumire mu mulyango gw'Enzigyo, olage mu kiwonvu Beninnomu. Eyo gy'onoolangiririra obubaka bwe nnaakuwa. Ojja kugamba nti: ‘Mmwe bakabaka ba Buyudaaya, nammwe abantu b'omu Yerusaalemu, muwulire obubaka bwa Mukama. Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Nja kuleeta akabi ku kifo kino, akaliwaawaaza amatu ga buli omu alikawulirako. Nja kukola ekyo, kubanga abantu bange banvaako ne bootereza balubaale obubaane, bo bennyini ne bajjajjaabwe, wadde bakabaka ba Buyudaaya, be batamanyangako, era bajjuzza ekifo kino omusaayi gw'abantu abatalina musango. Era bazimbidde lubaale Baali ebifo ebigulumivu, okwokerako batabani baabwe ng'ebitambiro eri lubaale oyo. Ekyo Nze sikibalagiranga, era tekinzijirangako na mu birowoozo. Kale ekiseera kijja kutuuka, ekifo kino kibe nga tekikyayitibwa Tofeti oba Ekiwonvu Beninnomu, naye kinaayitibwanga Kiwonvu kya Ttambiro. Mu kiwonvu kino, mwe ndisaanyizaawo ebyo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu bye bateesa. Ndireka abalabe baabwe ne babawangula, era ne babattira mu lutalo. Emirambo gyabwe ndigigabula ebinyonyi n'ebisolo ne bigirya. Ndizikiriza ekibuga kino. Buli ayitawo anaakwatanga mu mumwa, nga yeewuunya eby'entiisa ebikituuseeko. Abalabe balikizingiza okutta abakirimu. Mu kuzingizibwa okwo, abakirimu baliryaŋŋana, era balirya n'abaana baabwe.’ ” “Awo n'olyoka oyasa ensumbi eyo, ng'abantu abaagenze naawe balaba, n'obagamba nti Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Bwe ntyo bwe ndibetenta abantu bano n'ekibuga kino, ng'omuntu bw'ayasa ekintu eky'ebbumba, ekitayinza kuddamu kuyungibwa. Abantu baliziika ne mu Tofeti, olw'obutaba na kifo kirala kya kuziikamu. Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino n'abakibeeramu, ne nfuula ekibuga kino nga Tofeti. Ennyumba z'omu Yerusaalemu, n'eza bakabaka ba Buyudaaya, era n'ennyumba zonna mwe baayoterezanga obubaane eri emmunyeenye, n'ezo mwe baafukiranga ebyokunywa ebiweebwayo eri balubaale, zonna ziriba nnyonoonefu nga Tofeti.’ ” Awo ne nva e Tofeti, Mukama gye yali antumye okulangirira obubaka bwe. Ne ŋŋenda ne nnyimirira mu luggya lw'Essinzizo, ne ntegeeza abantu nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Ndituusa akabi ku kibuga kino, ne ku bubuga obukiriraanye, ke nagamba okukituusaako, kubanga abantu bakakanyazizza emitima gyabwe, ne batawuliriza bye mbagamba.’ ” Awo kabona Pasuhuuri, mutabani wa Yimmeri, eyali akulira abakuuma Essinzizo, bwe yawulira Yeremiya omulanzi ng'alangirira ebyo, n'ajja n'alagira ne bamukuba era ne bamusiba mu nvuba, eyali ku mulyango ogw'engulu ogwa Benyamiini mu Ssinzizo. Enkeera Pasuhuuri n'asumulula Yeremiya mu nvuba. Yeremiya n'amugamba nti: “Mukama takuyise linnya lyo Pasuhuuri, wabula akuyise Ntiisabuliwantu. Mukama agamba nti: ‘Ndikufuula eky'entiisa eri ggwe wennyini, n'eri mikwano gyo, era oliraba bwe battibwa abalabe baabwe mu lutalo. Ndiwaayo Obuyudaaya bwonna mu mikono gya kabaka wa Babilooni. Abamu alibatwala mu nsi ye nga basibe, abalala alibattira mu lutalo. Obugagga bwonna n'ebintu byonna eby'omuwendo mu kibuga kino, omuli n'ebya bakabaka ba Buyudaaya, ndibiwaayo ne binyagibwa abalabe, buli kimu bakitwale e Babilooni. Naawe Pasuhuuri, olikwatibwa n'otwalibwa e Babilooni ng'oli musibe n'ab'omu nnyumba yo bonna. Eyo gy'olifiira era gy'oliziikibwa, ggwe ne mikwano gyo bonna be walagulanga eby'obulimba.’ ” Ayi Mukama wannimba ne nzikiriza! Onsinza amaanyi, era ompangudde. Nfuuse kisekererwa buli kadde, buli muntu ankudaalira. Buli lwe njogera, ndeekaana ne nnangirira nti “Okunyaga n'okuzikiriza bijja!” Obubaka bwo, ayi Mukama, bunvumisa, era bunsekereza buli kadde. Naye bwe ŋŋamba nti “Mukama ka mmwerabire, ndekere awo n'okumwogerera,” obubaka bwo buba ng'omuliro ogubuubuukira mu nze. Nfuba okubuzibiikiriza, ne siyinza kubuziyiza. Mpulira nga bonna boogera obwama nti: “Buli wantu wabunye entiisa! Tumuloope mu b'obuyinza!” Ne mikwano gyange ennyo balindiridde kulaba bwe ngwa. Be bamu bagamba nti: “Singa asendebwasendebwa ne tumukwatiriza, ne tuwoolera eggwanga!” Naye Mukama ali wamu nange ye muzira nnantalumbwa, era abanjigganya bajja kulumwa. Baliswala nnyo, kubanga tebayinza kuwangula. Balikwatibwa ensonyi ennaku zonna. Naye ggwe, ayi Mukama Nnannyinimagye, ogeza abantu mu bwenkanya. Olaba bye balowooza mu mitima gyabwe. Kale ndaga nga bw'owoolera eggwanga, kubanga ensonga zange nzikwasizza ggwe. Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama, kubanga ataasa omunaku mu mikono gy'ababi. Olunaku kwe nazaalirwa lukolimirwe! Olunaku mmange kwe yanzaalira, luvumirirwe! Oyo akolimirwe, eyaleetera kitange amawulire agamusanyusa nti: “Ozaaliddwa omwana wa bulenzi.” Omuntu oyo abe ng'ebibuga Mukama bye yazikiriza nga tasaasira. Awulire emiranga ku makya, n'enduulu z'abaserikale mu ttuntu, kubanga teyanzita nga sinnazaalibwa. Mmange ye yandibadde entaana yange! Kale nazaalirwa ki? Okulaba ennaku n'okubonaabona, n'okufiira mu buswavu? Awo Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya, n'antumira Pasuhuuri mutabani wa Malukiya, ne Kabona Zefaniya mutabani wa Maaseya ng'agamba nti: “Nkwegayiridde, twogerereyo eri Mukama, kubanga Kabaka Nebukadunezzari atutabadde. Oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero, Nebukadunezzari n'atuvaako.” Awo ne mbagamba nti: “Mugambe Zeddeekiya nti: Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nja kuwangula eggye lyammwe erirwanyisa kabaka wa Babilooni n'eggye lye. Nja kukuŋŋaanyiza ebyokulwanyisa byammwe mu kibuga wakati. Nja kubalwanyisa mmwe n'amaanyi gange gonna, mu busungu n'ekiruyi, era n'obukambwe bungi. Nja kutta abali mu kibuga kino. Abantu n'ensolo bajja kufa kawumpuli ow'amaanyi. Oluvannyuma ggwe Zeddeekiya n'abakungu bo, n'abantu bonna abaliwonawo mu lutalo, n'abaliwona enjala ne kawumpuli n'endwadde, ndireka ne muwambibwa Kabaka Nebukadunezzari, n'abalabe bammwe abaagala okubatta. Alibatta awatali kusonyiwa na kukwatirwa kisa, wadde okusaasira. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ” Awo Mukama n'aŋŋamba ntegeeze abantu nti: “Mulabe, Nze Mukama nteeka mu maaso gammwe, ekkubo erituusa mu bulamu, n'ekkubo erituusa mu kufa. Mulondeewo. Buli asigala mu kibuga, ajja kuttirwa mu lutalo, oba anaafa enjala, oba endwadde. Naye buli anaakivaamu, ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazinze, ye atattibwe. Obulamu bwe, bwe bunaaba ng'omunyago gwe. Nsazeewo obutasaasira kibuga kino, wabula okukizikiriza. Kinaaweebwayo mu buyinza bwa kabaka wa Babilooni, n'akyokya omuliro. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'aŋŋamba okutuusa obubaka buno ku b'omu lulyo olulangira mu Buyudaaya nti: “Muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba mmwe bazzukulu ba Dawudi. Musalenga emisango buli lunaku. Mutaase oyo gwe bayiikiriza, obusungu bwange buleme kubuubuuka ng'omuliro, n'okubookya, olw'ebikolwa byammwe ebibi, ne wataba ayinza kubuziyiza. “Ggwe Yerusaalemu, ogulumidde waggulu w'ebiwonvu, ng'olwazi olugulumivu mu lusenyi. Ogamba nti: ‘Tewali ayinza kukulumba n'okutuuka gy'oli.’ Naye ndibonereza abakulimu olw'ebyo bye baakola. Nditeekera omuliro ku kibira kyo, ne gwokya byonna ebikyetoolodde. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Serengeta mu lubiri lwa kabaka wa Buyudaaya, otwaleyo obubaka buno, ogambe nti: Ggwe kabaka wa Buyudaaya, muzzukulu wa Dawudi, wulira obubaka bwa Mukama, ggwe n'abakungu bo, n'abantu b'omu Yerusaalemu. Mukama agamba nti mukolenga eby'obwenkanya era ebituufu. Mutaasenga oyo gwe bayiikiriza. Temulyazaamaanyanga bagwira ne bamulekwa, ne bannamwandu, wadde okubanyigirizanga. Era mu kifo kino, temuttanga bantu batalina musango Bwe mulituukiriza bye mbalagira, olwo bazzukulu ba Dawudi balyongera okuba bakabaka. Bo wamu n'abakungu baabwe, n'abantu baabwe, balyongera okuyitanga mu miryango gy'olubiri luno, nga bali mu magaali era nga beebagadde embalaasi. Naye bwe mutaliwulira kukola bye ndagira, nneerayira nzennyini nti olubiri luno lulifuuka matongo. Nze Mukama, Nze njogedde. “Ku lwange, olubiri lwa kabaka wa Buyudaaya lulungi ng'ensi ya Gileyaadi, era ng'ensozi za Lebanooni. Naye ndirufuula ekifo ekyabuliddwa, ekitakyalimu bantu, era ntegeka abaliruzikiriza. Bonna balireeta embazzi, ne batema empagi zaalwo ennungi eza keduro ne bazisuula mu muliro. “Oluvannyuma abagwira bangi bwe baliyita ku kibuga kino, balyebuuzaganya nti: ‘Lwaki Mukama, ekibuga kino ekikulu, yakikola bw'atyo?’ Awo baliddamu nti: ‘Kubanga baaleka endagaano gye baakola ne Katonda waabwe, ne basinza balubaale, era ne babaweereza.’ ” Abantu b'omu Buyudaaya, temukaabira Kabaka Yosiya eyafa, era temumukungubagira, naye mukaabire nnyo mutabani we Yehoyahaazi, kubanga bamutwala mu buwaŋŋanguse, naye si wa kudda. Taliddamu kulaba nsi y'ewaabwe. Ebifa ku Yehoyahaazi, eyasikira kitaawe Yosiya ku bwakabaka bwa Buyudaaya, eyaggyibwa kuno, Mukama agamba nti: “Si wa kudda. Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe. Taliddayo kulaba ku nsi eno.” Zimusanze oyo azimba ennyumba ye ng'ayita mu bulyazaamaanyi, n'agigaziya ng'akozesa obulyake, ng'akozeseza munne obwereere, n'atamuwa mpeera ye. Zimusanze oyo agamba nti: “Nja kwezimbira ennyumba ennene eya kalina, erimu ebisenge ebigazi.” Olwo n'agiteekako amadirisa n'agitindiza embaawo ez'omuvule n'agisiiga langi emmyufu. Olowooza nti oliba kabaka kubanga ozimbisizza omuvule ogusinga ogw'abalala? Kitaawo yalyanga n'anywa, n'akola eby'obwenkanya, ebituufu, n'aba bulungi. Emisango gy'abaavu n'abanaku yagisalanga bulungi, n'aba n'emirembe mu mutima. Okwo nno kwe kumanya Mukama. Naye ggwe weemalira ku bibyo byokka. Otta abatalina musango, otulugunya abantu bo n'obukambwe. Mukama ye ayogedde ebyo. Bino Mukama by'ayogera ku Yehoyakiimu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Buyudaaya nti: “Tebalimukungubagira, wadde okugamba nti: ‘Nga kitalo sseruganda, nga kitalo mwannyinaze!’ Tebalimukubira biwoobe nti: ‘Woowe, mukama wange! Woowe, kabaka waffe!’ Aliziikibwa nga ndogoyi. Balimukulula ne basuula ebweru w'emiryango gya Yerusaalemu.” Abantu b'omu Yerusaalemu, mulinnye ku Lebanooni muleekaane; mugende mu nsi y'e Basani muyimuse eddoboozi. Mukaabire ku nsozi z'e Mowaabu, kubanga mikwano gyammwe bonna bazikiriziddwa. Mukama yayogera nammwe nga muli bulungi, ne mugaana okuwuliriza. Bwe mutyo bwe mwamanyiira okukolanga obulamu bwammwe bwonna, mwagaanira ddala okuwuliranga by'agamba. Abakulembeze bammwe bonna balitwalibwa embuyaga, ne mikwano gyammwe baliwambibwa mu lutalo. Mulikwatibwa ensonyi ne muswala olw'ebibi byonna bye mwakola! Mwe abawulira emirembe mu miti gy'emivule gye mwaggya mu Lebanooni, muliba ba kusaasirwa nnyo. Obulumi bulibakwata, ne mubalagalwa ng'omukazi alumwa okuzaala! Mukama agamba nti: “Nga bwe ndi omulamu, ggwe Koniya, mutabani wa Yehoyakiimu kabaka wa Buyudaaya, ne bwe wandibadde empeta eri ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikunaanuddeko ne nkuwaayo eri ababi b'otya era abaagala okukutta. Ndikuwaayo mu mikono gya Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni ne mu gy'abaserikale be. Ggwe ne nnyoko akuzaala ndibagobera mu nsi endala gye mutaazaalibwamu, era mulifiira eyo. Mulyegomba okudda mu nsi eno, naye temulidda.” Omusajja ono Koniya afuuse ng'ekibya ekyatifu, ekisuuliddwa ekitaliiko akyagala? Ye n'ezzadde lye kyebavudde bagobebwa ne basindikibwa mu nsi gye batamanyi? Ayi ensi, ensi, ensi! Wulira Mukama ky'agambye nti: “Mubalire omusajja ono mu batalina baana. Mu bulamu bwe, nga teyafuna mukisa! Mu b'omusaayi gwe tewali alifuga nate Obuyudaaya ng'omusika wa Dawudi. Nze Mukama, Nze nkyogedde.” Zibasanze abakulembeze abo, abazikiriza era abasaasaanya abantu ba Mukama! Bino Mukama Katonda wa Yisirayeli, by'ayogera ku bakulembeze abalabirira abantu be, agamba nti: “Temwalabirira bantu bange. Mwabagoba ne mubasaasaanya. Kaakano ŋŋenda okubabonereza mmwe, olw'ekibi kye mwakola. Ndikuŋŋaanya abantu bange abasigaddewo okubaggya mu nsi zonna gye nabasaasaanyiza, mbakomyewo mu nsi yaabwe. Balizaala nnyo ne baala. Ndissaawo abakulembeze okubalabiriranga, balemenga kutya na kweraliikirira, era waleme kubaawo n'omu abula. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ne nnonda omuzzukulu omutuukirivu owa Dawudi, n'afuga nga ye kabaka. Kabaka oyo alifugisa magezi, n'akola ebituufu era eby'obwenkanya mu nsi ye. Mu mirembe gye, abantu b'omu Buyudaaya balibeera bulungi, n'abantu b'omu Yisirayeli balibeera mirembe. Erinnya lye aliyitibwa ‘Mukama, Omulokozi atuwa obutuukirivu.’ ” Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, abantu nga tebakyandayira nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri.’ Naye banandayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi ez'omu bukiikakkono, ne mu nsi zonna gye yabasaasaanyiza.’ Era balibeera mu nsi eyaabwe.” Omutima gwange gumenyese, nzenna nkankana ku lwa Mukama, n'olw'ebigambo bye ebitukuvu. Ndi ng'omutamiivu, ng'omuntu afugiddwa omwenge. Ensi ejjudde abantu abatanywerera ku Mukama. Ba mpisa mbi mu bulamu bwabwe, bakozesa bubi obuyinza bwe balina. Ensi ekungubaga, n'amalundiro gakaze olw'okukolimirwa Mukama. Mukama agamba nti: “Abalanzi ne bakabona boonoonefu. Nabasanga bakola ebibi ne mu Ssinzizo mwennyini. Kale amakubo ge bakwata galiba maseerevu, ga nzikiza. Balisindikibwa mu go ne bagwa. Ndibatuusaako akabi mu kiseera eky'okubonereza. Nze Mukama, Nze njogedde. Era ndabye ekibi ky'abalanzi b'e Samariya: balagula ku lwa Baali ne bakyamya abantu bange. Naye ndabye n'abalanzi ab'omu Yerusaalemu nga bakola eby'ekivve. Bakola eby'obwenzi, era balimba. Bawagira abantu abakola ebibi, ne wataba akyuka kulekayo bibi bye. Bonna ndaba nga babi ng'ab'e Sodoma ne Gomora. “Kale Nze Mukama Nnannyinimagye, kiikino kye ŋŋamba ku balanzi b'omu Yerusaalemu: ndibaliisa ebimera ebikaawa, era ndibanywesa obutwa kubanga babunyisizza obwonoonefu mu ggwanga lyonna.” Awo Mukama Nnannyinimagye n'agamba ab'omu Yerusaalemu nti: “Temuwuliriza ebyo abalanzi bye babalagula, nga babasuubiza ebitajja kubagasa. Babategeeza ebyo bo bennyini bye balowoozezza, sso si ebyo Nze bye njogedde. Abantu abanyooma bye njogedde, abalanzi abo babategeeza bulijjo nti: ‘Mujja kubeera bulungi.’ Era buli mukakanyavu wa mutima bamutegeeza nti tewali kabi kalimujjira.” “Naye ani ku balanzi abo eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? Tekuli yali awulidde bubaka bwe, wadde eyali awulirizza n'assaayo omwoyo ku ebyo Mukama by'agamba. Obusungu bwa Mukama buli nga kibuyaga: ye mbuyaga ey'amaanyi, erikuntira ku mitwe gy'ababi. Era obusungu bwe tebulikka nga tannatuukiriza ky'amaliridde okukola. Kino abantu be mu biseera ebijja balikitegeera bulungi.” Awo Mukama n'agamba nti: “Saatuma balanzi abo, naye ne bagenda. Saabawa bubaka, naye ne boogera mu linnya lyange. Singa baamanya ebirowoozo byange, kale bandituusizza obubaka bwange ku bantu bange, ne babakyusa okuva mu mpisa zaabwe embi, n'ebikolwa byabwe ebibi. “Ndi Katonda ali okumpi n'ewala. Tewali ayinza kwekweka we yeekisizza, ne simulaba. Temumanyi nga ndi buli wantu, mu ggulu ne mu nsi? Mmanyi abalanzi abo bye boogedde, abalanga eby'obulimba, nga bakozesa erinnya lyange, nga bagamba nti: ‘Mukama yandoosezza, Mukama yandoosezza.’ Abalanzi abo balituusa wa okukyamya abantu bange, nga babategeeza eby'obulimba bye beeyiiyiza? Balowooza nti ebirooto byabwe bye banyumya, binaaleetera abantu okunneerabira, badde eri Baali. Omulanzi aloose ekirooto, ayogerenga nti kirooto bulooto. N'oyo afunye obubaka, abulangirirenga n'obwesigwa. Ebisusunku biba birungi ng'eŋŋaano? Obubaka bwange buli ng'omuliro, era ng'ennyondo eyasaayasa olwazi. Nkyawa abalanzi abo abaddira ebigambo bya bannaabwe, ne babirangirira ng'obubaka bwange. Era nkyawa n'abalanzi bange abo, abaddira ebigambo ebyabwe ku bwabwe, ne bagamba nti Nze mbyogedde. Muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba: nkyawa abalanzi aboogera ebirooto byabwe eby'obulimba, ne bakyamya abantu bange olw'obulimba bwabwe obwo, n'okwenyumiriza mu bitaliimu. Sibatumanga, era sibalagiranga. Era tebalina kye bagasa mu bantu bange. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, omu ku bantu bange, oba omulanzi, oba kabona, bw'akubuuza nti: ‘Obubaka bwa Mukama bwe buluwa?’ Ggwe muddemu nti: ‘Oli mugugu eri Mukama, era agenda kukusuula eri.’ Singa omulanzi oba kabona oba omulala yenna alikozesa ebigambo: ‘Omugugu gwa Mukama,’ ndimubonereza ye n'ab'ennyumba ye. Wabula buli omu abuuzenga mikwano gye n'ab'eŋŋanda ze nti: ‘Mukama azzeemu ki? Mukama agambye ki?’ Tebakozesanga nate bigambo bino nti: ‘Omugugu gwa Mukama,’ kubanga oyo alibikozesa, obubaka bwange bulimufuukira omugugu. Abantu bakyamya ebigambo bya Katonda Nnannyinibulamu, Mukama Nnannyinimagye, Katonda waabwe. Ggwe Yeremiya, buuza abalanzi nti: ‘Mukama akuzzeemu ki? Mukama agambye ki?’ Naye bwe bajeemera ekiragiro kyange, ne bakozesa ebigambo: ‘Omugugu gwa Mukama,’ bategeeze nti nja kubasitula mbakanyuge wala, bo bennyini n'ekibuga kyabwe kye nabawa, ne bajjajjaabwe. Era ndibaleetako ensonyi n'okuswala, ebitalyerabirwa.” Awo Mukama n'andaga ebisero bibiri eby'emitiini, nga biteekeddwa mu maaso g'Essinzizo. Ekyo kyaliwo nga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni amaze okuggya mu Yerusaalemu Kabaka Yekoniya, mutabani wa Yehoyakiimu, n'amutwala mu buwaŋŋanguse, awamu n'abakulembeze ba Buyudaaya, n'abakungu, era n'abamanyirivu mu mirimu. Ekisero ekisooka, kyalimu emitiini emirungi, egisooka okwengera. Ekirala kyalimu emitiini emibi ennyo, egitayinza kuliika. Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba emitiini emirungi ennyo, ate n'emibi ennyo egitayinza kuliika.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, ndaba ng'abantu be nasindiikiriza okuva mu Buyudaaya, ne batwalibwa mu nsi y'Abakaludaaya, bali ng'emitiini emirungi. Era ndibakwatirwa ekisa, ne mbakomyawo mu nsi eno. Ndibazimba ne sibaabuluza. Ndibasimba ne sibasimbula. Ndibaagazisa okumanya nga Nze Mukama. Banaabanga bantu bange, ne mba Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n'omutima gwabwe gwonna. “Naye Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya n'abakungu be, n'abantu b'omu Yerusaalemu, abaasigala mu nsi eno, oba abaddukira mu nsi y'e Misiri, Nze Mukama, bonna ndibayisa ng'emitiini gino emibi egitayinza kuliika. Ndibatuusaako akabi, amawanga gonna ku nsi galyoke gatye. Abantu balibavuma, ne babayisizaako engero, ne babasekerera, era ne bakozesanga erinnya lyabwe nga bakolima, buli gye ndibasaasaanyiza. Ndisindika mu bo olutalo n'enjala n'endwadde, okutuusa lwe baliggwaawo mu nsi gye nabawa bo ne bajjajjaabwe.” Mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, ne nfuna obubaka bwa Mukama obufa ku bantu b'omu Buyudaaya. Ogwo gwe gwali omwaka ogusooka, nga Nebukadunezzari ye kabaka wa Babilooni. Ne ŋŋamba ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti: “Okuva mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu nga Yosiya mutabani wa Ammoni ye kabaka wa Buyudaaya, n'okutuusa kati, gye myaka amakumi abiri mu esatu, Mukama abadde ayogera nange, era sirekangayo kubategeeza by'ayogedde. Naye mmwe mwagaana okuwuliriza. Mwagaana okuwuliriza, wadde okussaayo omwoyo, newaakubadde nga Mukama yayongera okubatumiranga abaweereza be abalanzi. Baabagambanga nti: ‘Buli muntu ave mu mpisa ze embi, era alekeyo ebikolwa bye ebibi, mulyoke musobole okubeeranga mu nsi, Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuba obutaka bwammwe. Temuusinzenga balubaale, wadde okubaweerezanga, muleme kunyiiza Mukama nga musinza ebyo abantu bye bakola. Mukama bwe mulimuwulira, talibakolako kabi.’ Naye Mukama yennyini agamba nti mwagaana okumuwulira. Bwe mutyo ne mumusunguwaza olw'ebyo bye mukola, ne mwereetera okubonerezebwa. “Mukama Nnannyinimagye kyava agamba nti: ‘Nga bwe mugaanye okuwulira bye ŋŋamba, nja kutumya abantu bonna ab'omu bukiikakkono, n'omuweereza wange Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni, mbaleete, balwanyise ab'omu Buyudaaya, n'ab'omu mawanga gonna agaliraanyeewo. Ndizikiririza ddala eggwanga lino, n'agaliriraanye, ne ngafuula eky'entiisa, ekinyoomebwa, era amatongo ag'olubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde. “ ‘Ndisirisa amaloboozi g'abajaguza n'abajaganya, n'essanyu ly'abali ku mbaga z'obugole. Tebalisiga ŋŋaano, era tebaliba na mafuta ga ttaala. Ensi eno yonna eriba matongo ag'entiisa, era amawanga agaliraanyeewo galiweereza kabaka wa Babilooni okumala emyaka nsanvu. Emyaka ensanvu bwe giriyitawo, ne mbonereza kabaka wa Babilooni n'ab'omu ggwanga eryo, olw'ebibi byabwe. Ndizikiriza eggwanga eryo, ne ndifuula amatongo ennaku zonna. Era ndituusa ku nsi eyo byonna bye nalangirira ku mawanga gonna, nga mpita mu Yeremiya, ebyawandiikibwa mu kitabo kino. Ndyesasuza ku Bakaludaaya olw'ebyo bye baakola. Amawanga mangi, ne bakabaka abakulu, balibafuula abaddu.’ ” Awo Mukama Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba nti: “Kwata ekikopo ekiri mu ngalo zange, ekijjudde obusungu bwange, okinyweseeko ab'amawanga gonna gye nkutuma. Balikinywako ne batagatta, ne balaluka olw'olutalo lwe ndisindika mu bo.” Awo ne nzigya ekikopo mu ngalo za Mukama, ne nkinywesaako ab'amawanga gonna, Mukama gye yantuma. Ab'omu Yerusaalemu n'ab'omu bibuga byonna ebya Buyudaaya, wamu ne bakabaka n'abakungu baamu, ne bakinywesebwako, ebibuga ebyo biryoke bifuuke matongo ag'entiisa era aganyoomebwa, abantu bakozesenga amannya gaabyo nga bakolima, ng'era bwe bakola kaakano. Abalala abalinywesebwa ku kikopo ekyo be bano: kabaka wa Misiri, n'abaweereza be, n'abakungu be, n'abantu be bonna, n'abagwira bonna abali mu Misiri, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ya Wuuzi, ne bakabaka bonna ab'omu bibuga by'Abafilistiya eby'e Asukelooni ne Gaaza ne Ekurooni, n'abasigaddewo mu Asudoodi; abantu bonna ab'omu Edomu, ne Mowaabu ne Ammoni; ne bakabaka bonna ab'e Tiiro ne Sidoni; ne bakabaka bonna ab'ensi ezeetoolodde Ennyanja Eyaawakati, n'ab'omu bibuga Dedani ne Tema ne Buuzi, n'abantu bonna abasala ku nviiri zaabwe; ne bakabaka bonna ab'e Buwarabu, ne bakabaka bonna ab'abantu ababeera mu ddungu, ne bakabaka bonna ab'e Zimuri ne Elamu ne Mediya; ne bakabaka bonna ab'omu bukiikakkono, ab'ewala n'ab'okumpi, buli kinnoomu. Ab'omu mawanga gonna balikinywesebwako. Kabaka wa Sesaki ye alisembayo okukinywako. Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Tegeeza abantu nti Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Munywe, mutamiire, museseme, mugwe wansi, muleme kusitukawo, olw'olutalo lwe ndisindika mu mmwe.’ Bwe baligaana okukwata ekiri mu mukono gwo okukinywako, olibagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye agamba nti muteekwa okukinywako,’ kubanga nditandikira ku kibuga kyange kyennyini okukola akabi. Balowooza nti bo be baliwona okubonerezebwa? Nedda, tebaliwona kubonerezebwa, kubanga ndisindika olutalo mu bantu bonna abali ku nsi. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde. “Kale ggwe Yeremiya, olirangirira byonna bye njogedde. Oligamba abantu abo nti: ‘Mukama aliwuluguma ng'asinzira mu ggulu, alibwatuka ng'asinziira mu kifo kye ekitukuvu. Alibwatukira abantu be n'aleekaana ng'abo abasamba emizabbibu, awulize bonna abali ku nsi. Eddoboozi lye lirituuka ensi gy'ekoma, kubanga waliwo omusango Mukama gw'avunaana amawanga. Aliwozesa abantu bonna. Ababi alibawaayo okuttibwa. Mukama ye ayogedde.’ ” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Akabi kaliranda, okuva ku ggwanga erimu, okudda ku ddala, era kibuyaga ow'amaanyi alikunta, okuva ku nsonda z'ensi ez'ewala. Ku lunaku olwo, emirambo gy'abo Mukama b'alitta, girisaasaanira wonna, okuva ensi gy'etandikira, okutuuka gy'ekoma. Tebalikungubagirwa, era tebalikuŋŋanyizibwa ne baziikibwa. Balisigala kungulu ng'obusa. Muleekaane mmwe abakulembeze, mukube ebiwoobe! Mmwe abalabirira abantu bange mwekulukuunye mu nfuufu, kubanga ekiseera kituuse muttibwe era mwasibweyasibwe ng'ekibya eky'omuwendo ekigudde ne kyatikayatika. Temulibaako buddukiro, era temulibaako we muwonera. Muwulire emiranga abakulembeze gye batema, n'okuleekaana kw'abo abalabirira abantu! Mukama asaanyizzaawo eggwanga lyabwe, era ensi yaabwe eyabeerangamu emirembe, Mukama mu busungu bwe agifudde matongo. Mukama ayabulidde abantu be, ng'empologoma bw'eva mu mpuku yaayo. Entiisa y'olutalo n'ekiruyi kya Mukama, ensi yaabwe bigifudde matongo!” Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya, bwe yali nga yaakafuuka kabaka wa Buyudaaya, Mukama n'aŋŋamba nti: “Yimirira mu luggya lw'Essinzizo, olangirire byonna bye nkulagidde okutegeeza abantu abava mu bibuga bya Buyudaaya, ne bajja okunsinziza mu Ssinzizo. Tolekaayo kigambo na kimu. Oboolyawo banaawulira, ne bakyuka okulekayo empisa zaabwe embi. Olwo nja kukyusa kye mbadde nteesezza okubakolako olw'ebikolwa byabwe ebibi. “Era bagambe nti Nze Mukama mbagambye nti mumpulire, mukwate amateeka ge mbateereddewo. Era muwulirizenga ebyo abaweereza bange abalanzi, be mbatumira awatali kwosa, bye babategeeza. Naye mmwe temuwuliriza bye bagamba. Bwe mutaalekere awo kunjeemera, ndikola ku Ssinzizo lino, kye nakola ku Siilo, era amawanga gonna ku nsi, ganaakozesanga erinnya ly'ekibuga kino nga gakolima.” Awo bakabona n'abalanzi, n'abantu bonna, ne bawulira nga njogera ebigambo ebyo mu Ssinzizo. Era olwamaliriza okwogera, ne bankwata, nga bagamba nti: “Oli wa kuttibwa. Oyinza otya okwogera mu linnya lya Mukama nti Essinzizo lino lirifuuka nga Siilo, era nti ekibuga kino kirizikirizibwa, ne wataba muntu akibeeramu?” Abantu bonna ne bakuŋŋaanira we ndi mu Ssinzizo. Awo abakungu ba Buyudaaya bwe baawulira ebiguddewo, ne bava mu lubiri lwa kabaka, ne bambuka ku Ssinzizo. Ne batuula ku ntebe zaabwe, mu Mulyango Omuggya ogw'Essinzizo. Awo bakabona n'abalanzi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti: “Omusajja ono asaanidde okusalirwa ogw'okuttibwa, kubanga ayogedde bubi ku kibuga kyaffe, nga nammwe mwennyini bwe muwulidde.” Awo nze Yeremiya ne ŋŋamba abakungu bonna, n'abantu bonna nti: “Mukama ye yantuma okulangirira ebigambo byonna bye muwulidde, ebifa ku Ssinzizo lino, ne ku kibuga kino. Kale mulongoose empisa zammwe n'ebikolwa byammwe, era muwulire Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama alikyusa ky'abadde ateesezza okubakolako.” “Naye nze, nzuuno, ndi mu mikono gyammwe. Munkoleko kye mulaba nga kirungi era nga kituufu. Kyokka mukimanyire ddala nti bwe munzita, mmwe n'abantu b'omu kibuga kino, muneereetako ekibi eky'okutta omuntu ataliiko musango, kubanga Mukama ye yantuma okubategeeza ebyo byonna.” Awo abakungu b'abantu ne bagamba bakabona n'abalanzi nti: “Omusajja ono tasaanidde kuttibwa, kubanga ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.” Awo abamu ku bantu abakulu mu ggwanga ne basituka, ne bagamba abantu abakuŋŋaanye nti: “Heezeekiya bwe yali nga ye kabaka wa Buyudaaya, Mikka ow'e Moreseti yategeeza abantu bonna ab'omu Buyudaaya nti Mukama Nnannyinimagye agambye nti: ‘Olusozi Siyooni lulirimibwa ng'ennimiro, n'Ekibuga Yerusaalemu kirifuuka ntuumu ya bisasiro, n'olusozi okuli Essinzizo lulimerako ekibira.’ Kabaka Heezeekiya n'abantu b'omu Buyudaaya, tebatta Mikka. Naye Heezeekiya yassaamu Mukama ekitiibwa, n'amusaba abe wa kisa. Ne Mukama n'akyusa ekirowoozo kye, n'ataleeta kabi ke yali agambye okubatuusaako. Naye ffe tugenda okwereetera akabi!” Kale era waaliwo omusajja omulala ayitibwa Wuriya, mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyati Yeyariimu, eyalagula mu linnya lya Mukama ebifa ku kibuga kino ne ku ggwanga lino, nga Yeremiya bwe yakola. Kabaka Yehoyakiimu ne basajja be ab'amaanyi n'abakungu be bonna bwe baawulira Wuriya bye yayogera, kabaka n'ayagala okumutta. Wuriya bwe yakimanya, n'atya, n'addukira mu Misiri. Kabaka n'atuma Elunatani mutabani wa Akuboori, n'abantu abalala e Misiri okukimayo Wuriya. Ne bamuleeta eri Yehoyakiimu kabaka. Kabaka n'alagira ne bamutta, omulambo gwe ne bagusuula mu kifo ekiziikibwamu ekya lukale. Naye nze Yeremiya, olw'okuyambibwa Ahikaamu mutabani wa Safani, ssaaweebwayo mu bantu kuttibwa. Zeddeekiya mutabani wa Yosiya, bwe yali nga yaakafuulibwa kabaka wa Buyudaaya, Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, weekolere ekikoligo mu miti emikiike era emisibise enkoba, okyeyambike mu bulago. Oweereze obubaka eri bakabaka: ow'e Edomu, n'ow'e Mowaabu, n'ow'e Ammoni, n'ow'e Tiiro, n'ow'e Sidoni, ng'oyita mu babaka baabwe abajja e Yerusaalemu okulaba Kabaka Zeddeekiya. Obawe obubaka obw'okutwalira bakama baabwe nti Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti mugambe bakama bammwe nti: ‘Olw'obuyinza bwange obungi, n'amaanyi gange, Nze natonda ensi erimu abantu n'ensolo, era ngiwa oyo gwe nsiima. Era kaakano ensi zino zonna nziwadde omuweereza wange Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya okuzifuga. Era mmuwadde n'ensolo ez'omu ttale okumuweereza. Amawanga gonna galimuweereza, ye ne mutabani we, n'omwana wa mutabani we, okutuusa ekiseera kye nategekera eggwanga lye lwe kiriggwaako, olwo nalyo ne liryoka liweereza amawanga mangi, aga bakabaka abakulu. “ ‘Ab'eggwanga oba obwakabaka abaligaana okuweereza kabaka oyo Nebukadunezzari owa Babilooniya, n'okugondera obuyinza bwe, ndibabonereza n'olutalo n'enjala n'endwadde, okutuusa lwe ndireka Nebukadunezzari okubusaanyizaawo ddala. Kale temuwuliriza balanzi bammwe n'abalaguzi bammwe, wadde omulala yenna agamba nti ayinza okulanga ebirijja, ng'avvuunula ebirooto oba nga yeebuuza ku mizimu oba ng'akozesa eby'amalogo. Abo bonna babagamba nti temuliweereza kabaka wa Babilooniya. Babalagula bya bulimba era balibaleetera okutwalibwa ewala w'ensi yammwe, ngibagobemu mmwe, era mbazikirize. Naye ab'eggwanga eririgondera obufuzi bwa kabaka wa Babilooniya, ne limuweereza, ndibaleka okusigala mu nsi yaabwe, okugirima n'okugibeeramu. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ” Awo ebintu ebyo bye bimu, ne mbitegeeza Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya, ne mmugamba nti: “Mukkirize okufugibwa kabaka wa Babilooniya. Mumuweereze ye n'abantu be, lwe munaalama. Ggwe n'abantu bo, mwagalira ki okufiira mu lutalo, oba okufa enjala oba endwadde, nga Mukama bw'agambye nti ebyo bye birituuka ku ggwanga eritalikkiriza kufugibwa kabaka wa Babilooniya? Temuwuliriza balanzi babagamba nti temuliweereza kabaka wa Babilooniya, kubanga babalagula bya bulimba. Mukama yennyini agamba nti tabatumanga, wabula boogera bya bulimba mu linnya lye. Kale ajja kubagoba mmwe mu nsi ye, muzikirire wamu n'abalanzi abo ababalagula.” Era ne ntegeeza bakabona n'abantu bano bonna, Mukama by'agambye nti: “Temuwuliriza bya balanzi bammwe ababalagula nti ebintu by'Essinzizo bijja kuzzibwa mangu okuva e Babilooni. Babalagula bya bulimba. Temubawuliriza. Mugondere kabaka wa Babilooniya, lwe munaalama. Ekibuga kino kinaafuukira ki amatongo? Oba ddala balanzi era nga balina obubaka bwange, kale beegayirire Nze Mukama Nnannyinimagye, ebintu ebisigaddewo mu Ssinzizo ne mu lubiri lwa kabaka wa Buyudaaya ne mu Yerusaalemu bireme kutwalibwa mu Babilooniya.” Mukama Nnannyinimagye bw'atyo bw'ayogera ku mpagi ne tanka n'ebikondo by'ebinaabiro, n'ebintu ebirala ebyasigala mu Kibuga Yerusaalemu, Nebukadunezzari kabaka w'e Babilooni bwe yatwala e Babilooni mu busibe kabaka wa Buyudaaya Yekoniya mutabani wa Yehoyakiimu n'abakungu bonna ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu. Mukama agamba nti: “Muwulire ebyo Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, bye ŋŋamba, ebifa ku bintu ebyasigala mu Ssinzizo ne mu lubiri lwa kabaka e Yerusaalemu. Bijja kutwalibwa e Babilooni, era bibeere eyo okutuusa lwe ndibissaako omwoyo, ne mbikomyawo, ne mbiteeka mu kifo kino. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mu mwaka ogwo gwennyini, mu mwezi ogwokutaano ogw'omwaka ogwokuna nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Ananiya mutabani wa Azzuri era omulanzi ow'e Gibiyoni, n'ayogera nange mu Ssinzizo, bakabona n'abantu bonna nga weebali. N'aŋŋamba nti: “Mukama Katonda Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Mmenyeewo obuyinza bwa kabaka wa Babilooni. Mu bbanga lya myaka ebiri, nja kukomyawo mu kifo kino ebintu byonna eby'Essinzizo, Kabaka Nebukadunezzari bye yaggyamu n'abitwala e Babilooni. Era nja kukomyawo kabaka wa Buyudaaya, Yekoniya mutabani wa Yehoyakiimu, awamu n'abantu bonna ab'omu Buyudaaya, abaatwalibwa mu Babilooni nga basibe. Nja kumenyawo obuyinza bwa kabaka wa Babilooni. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde.’ ” Bakabona n'abantu bonna nga weebali, ne ŋŋamba omulanzi Ananiya nti: “Weewaawo. Ka tusuubire nti Mukama anaakola bw'atyo, era nti anaatuukiriza by'olagudde, n'akomyawo okuva e Babilooni ebintu by'Essinzizo n'abantu bonna abaatwalibwayo okusibirwayo. Naye wulira kye nkugamba ggwe Ananiya era kye ŋŋamba abantu bonna. Abalanzi abaatusooka ggwe nange, baalanga entalo n'enjala n'endwadde eby'okujjira amawanga amangi n'obwakabaka obw'amaanyi. Naye omulanzi alanga emirembe, akakasibwa nti ddala mulanzi eyatumibwa Mukama, nga ky'alanze kimaze kutuukirira.” Awo Ananiya n'aggya ekikoligo mu bulago bwange, n'akimenyaamenyamu. N'ayogera ng'abantu bonna weebali, n'agamba nti: “Mukama agamba nti bw'ati bw'alimenya ekikoligo, Kabaka Nebukadunezzari ky'atadde mu bulago bw'amawanga gonna. Era ekyo ajja kukikola mu bbanga lya myaka ebiri.” Olwo nze ne nvaawo. Bwe waayitawo ekiseera, Mukama n'aŋŋamba ŋŋende ntegeeze Ananiya nti: “Mukama agamba nti omenye ekikoligo eky'omuti, naye olikola ekikoligo eky'ekyuma, ne kidda mu kifo kya kino. Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti aliteeka ekikoligo eky'ekyuma mu bulago bw'amawanga gano gonna, gaweerezenga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni. Mukama agamba nti n'ebisolo eby'omu ttale, nabyo biriweereza Nebukadunezzari.” Awo ne ntegeeza Ananiya ebigambo ebyo, era ne mugamba nti: “Wulira ggwe Ananiya! Mukama takutumanga, n'oleetera abantu bano okwesiga eby'obulimba. Kale nno Mukama yennyini agamba nti ajja kukuggya ku nsi. Ojja kufa ng'omwaka guno tegunnaggwaako, kubanga oyogedde ebiwakanya Mukama.” Awo Ananiya n'afa mu mwaka ogwo gwennyini, mu mwezi ogw'omusanvu. Eno ye bbaluwa gye nawandiikira bakabona n'abalanzi n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abalala bonna Nebukadunezzari be yaggya e Yerusaalemu, n'abatwala e Babilooni mu busibe. Nagiwandiika nga Kabaka Yekoniya, ne nnyina, n'abakungu b'omu lubiri, n'abakulembeze b'omu Buyudaaya ne Yerusaalemu, n'abafundi n'abaweesi, bamaze okuggyibwa e Yerusaalemu. Nagikwasa Elasa mutabani wa Safani, era ne Gemariya mutabani wa Yilikiya, Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya be yatuma e Babilooni eri Kabaka Nebukadunezzari. Yali egamba bw'eti: “Mukama Nnannyinimagye Katonda wa Yisirayeli, abasibe bonna abaggyibwa e Yerusaalemu ne batwalibwa e Babilooni, abagamba nti: ‘Muzimbe amayumba, mukkalire. Musimbe ensuku, mulye emmere yaamu. Muwase abakazi, muzaale abaana. Muwasize batabani bammwe abakazi, era mufumbize bawala bammwe, bazaale, mweyongere obungi, muleme kukendeera. Mukolere obulungi bw'ebibuga gye nabatwala mu busibe. Munsabenga, mbiwenga omukisa, kubanga bwe biriba emirembe, nammwe muliba mirembe. “ ‘Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, mbalabula muleme kulimbibwa balanzi abali mu mmwe, wadde abalala bonna, abagamba nti bayinza okulanga ebirijja. Temuwuliriza birooto byabwe bye baloota, kubanga bye babalagula, nga bajuliza erinnya lyange, bya bulimba. Nze sibatumanga. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ” Mukama agamba nti: “Emyaka nsanvu gye nawa Babilooni bwe giriggwaako, ne ndyoka ndaga bwe mbalumirwa mmwe era ne ntuukiriza kye nabasuubiza eky'okubakomyawo ku butaka. Mmanyi bulungi bye mbategekedde mmwe. Bye mbategekedde si bya kabi, naye bya mirembe, egirimu okusuubira ebirungi gye bujja. Olwo mulinkoowoola, ne mujja okunneegayirira, ne mbawulira. Mulinnoonya ne mundaba, kubanga mulinnoonya n'omutima gwammwe gwonna. Ddala mulindaba, era ndibaggya mu busibe. Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nabaasaanyiza, ne mbakomyawo mu nsi mwe nabaggya okubatwala mu busibe. Nze Mukama, Nze njogedde. “Mugamba nti: ‘Mukama atuwadde abalanzi mu Babilooni.’ Muwulire ekyo Mukama ky'agamba ku kabaka afuga obwakabaka bwa Dawudi, ne ku baganda bammwe, abataatwalibwa wamu nammwe mu busibe. Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Ndisindika mu bo olutalo n'enjala n'endwadde, era ndibafuula ng'emitiini emivundu, egitakyayinza kuliibwa. Ndibayigganya n'olutalo, n'enjala, n'endwadde, era amawanga gonna galyesisiwala okulaba ekyo. Buli gye ndibasaasaanyiza, abantu balitya era balyekanga olw'ebyo ebibatuuseeko. Balibasekerera, era balikozesa erinnya lyabwe mu kukolima. Ebyo biribatuukako, kubanga tebaawuliriza bubaka bwange bwe nabaweerezanga awatali kwosa, nga mbuyisa ku baweereza bange abalanzi, naye bo ne batakkiriza kuwulira. Kale mmwe mwenna be naggya e Yerusaalemu ne mbasindika e Babilooni mu buwaŋŋanguse, muwulire ebyo Nze Mukama bye ŋŋamba.’ ” Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, ayogedde ku Akabu, mutabani wa Kalaya ne ku Zeddeekiya mutabani wa Maaseya, ababategeeza eby'obulimba nga bajuliza erinnya lye. Agambye nti alibawaayo mu mikono gya Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni n'abatta nga mulaba. Era abasibe bonna abaava mu Buyudaaya abali e Babilooni, bwe banaabangako gwe bakolimira, banaagambanga nti: “Mukama akufuule nga Zeddeekiya ne Akabu, kabaka wa Babilooni be yayokya omuliro!” Ekyo kijja kubatuukako, kubanga bakoze eby'obusirusiru mu Yisirayeli. Benze ku baka bannaabwe, era boogedde eby'obulimba nga bajuliza erinnya lya Mukama. Mukama tabibalagiranga. Amanyi bye bakoze, era ye mujulirwa. Mukama ye ayogedde. “Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada, obe mukulu mu Ssinzizo. Mulimu gwo okulaba nga buli mulalu eyeefuula omulanzi ateekebwa mu nvuba asibwe mu kkomera. Kale lwaki tokoze bw'otyo ku Yeremiya ow'e Anatooti, eyeefuula omulanzi, n'ayogera gye muli? Yeremiya oyo, yatutumira mu Babilooni ng'agamba nti: ‘Obusibe bwa kulwawo. Muzimbe amayumba mukkalire, era musimbe ensuku, mulyenga emmere yaamu.’ ” Awo Zefaniya kabona, n'ansomera ebbaluwa eyo. Mukama n'aŋŋamba Mukama Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba nti: “Wandiika mu kitabo, ebigambo byonna, bye nkubuulidde, kubanga ekiseera kijja kutuuka, nnunule abantu bange aba Yisirayeli, n'aba Buyudaaya. Ndibakomyawo mu nsi yaabwe, gye nawa bajjajjaabwe era eriddamu okuba eyaabwe.” Mukama agamba abantu ba Yisirayeli, n'aba Buyudaaya nti: “Mpulidde eddoboozi ery'okukankana, ery'okutya, sso si lya mirembe. Mulowooze, mwebuuze, oba omusajja alumwa okuzaala. Kale lwaki ndaba buli musajja nga yeekutte ku lubuto, ng'omukazi alumwa okuzaala? N'amaaso gakyuse langi yaago! Olunaku olukulu lujja, era tewali lulwenkana. Luliba lwa buyinike ku ba Yakobo. Kyokka baliluvvuunuka.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Olunaku olwo bwe lulituuka, ndimenya ekikoligo ekiri mu bulago bwabwe. Ndikutula enjegere ezibasibye. Tebaliddayo kuba baddu ba bagwira, naye baliweereza Nze Mukama Katonda waabwe, ne muzzukulu wa Dawudi, gwe ndibateerawo ku bwakabaka. “Kale mmwe abantu bange, abaweereza bange, temutya. Abayisirayeli, temweraliikirira. Ndibanunula, ne mbaggya mu nsi ey'ewala, mu nsi eyo gye mwasibirwa. Mulidda ewaabommwe, ne mubeera mu ddembe, nga tewali abatiisa, kubanga ndi wamu nammwe okubalokola. Ndizikiriza amawanga gonna, gye nabasaasaanyiza mmwe. Naye mmwe siribasaanyaawo. Siribaleka kubaginya, naye ndibabonereza ekisaanidde. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba abantu be nti: “Ebbwa lyammwe teriwonyezeka, n'ebiwundu byammwe si byakuwona. Tewali anaabijjanjaba, tewali ddagala linaabagasa, tewali ssuubi lya kuwona! Baganzi bammwe bonna babeerabidde, tebakyabafaako, kubanga mmwe mbalumbaganye ng'omulabe, mbabonerezza n'obukambwe olw'ebibi byammwe ebingi n'olw'emisango gyammwe eminene. Temwemulugunya olw'ebiwundu byammwe; obulumi bwammwe si bwa kuwona. Nababonereza bwe ntyo olw'ebibi byammwe ebingi, n'olw'emisango gyammwe eminene. Naye kaakati bonna abo ababakavvula mmwe, balikavvulwa. Abalabe bammwe bonna balitwalibwa mu busibe. Bonna ababanyigiriza mmwe, n'ababanyaga, balinyagibwa. Ndibongeramu mmwe obulamu, ndiwonya ebiwundu byammwe. Newaakubadde abalabe bammwe, bagamba nti: ‘Siyooni agobeddwa, tewakyali amufaako.’ Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Ndizzaayo abantu bange mu nsi yaabwe ne nkwatirwa ekisa buli maka. Yerusaalemu kirizimbibwa buggya, n'olubiri lwakyo lulizzibwawo we lwali. Abantu ababeeramu baliyimba ennyimba ez'okutendereza. Balireekaana olw'essanyu. Ndibawa omukisa, ne beeyongera obungi awatali kukendeera. Baliweebwa ekitiibwa awatali kutoowazibwa. Ndizzaawo obuyinza bw'eggwanga lyabwe, ne mbunywereza ddala. Ndibonereza bonna ababanyigiriza. Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ne mba Katonda w'ebika byonna ebya Yisirayeli, bo ne baba bantu bange. Mu ddungu, nakwatirwa ekisa abantu abaawonawo okuttibwa. Abayisirayeli bwe beegomba ekiwummulo, nabalabikira nga ndi wala. Mmwe Abayisirayeli, nabaagala n'okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nnyongera okubakwatirwa ekisa. Ndiddamu okubazimba, ne muzzibwa buggya. Mulyambalira ebivuga byammwe, ne muzina nga musanyuka. Muliddamu okusimba emisiri gy'emizabbibu ku nsozi z'e Samariya, era abo abalisimba balirya ebibala byamu. Ddala ekiseera kirituuka, abakuumi b'oku nsozi lwe balikoowoolera ku busozi bwa Efurayimu nti: ‘Twambuke e Siyooni eri Mukama Katonda waffe.’ ” Mukama agamba nti: “Muyimbire Yisirayeli n'essanyu. Mumukubire emizira, akulira amawanga gonna. Muyimbe nga mukungiriza nti: ‘Mukama alokodde abantu be, Abayisirayeli abawonyeewo!’ Ndibaggya mu bukiikakkono, ndibakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y'ensi. Mu bo mulijjiramu bamuzibe n'abalema, abakazi abali embuto, n'abanaatera okuzaala. Ndibakomyawo wano mu kibiina kinene. Abantu bange balidda nga bakaaba amaziga, ndibazza nga beegayirira. Ndibayisa ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu, mwe batalyesittala, kubanga ndi kitaawe wa Yisirayeli, ne Efurayimu ye muggulanda wange.” Mukama agamba nti: “Muwulire mmwe amawanga ebigambo byange, mubirangirire ku bizinga ebiri ewala, mugambe nti: ‘Mukama eyasaasaanya Abayisirayeli ye alibakuŋŋaanya, era anaabakuumanga ng'omusumba bw'akuuma eggana lye.’ Nnunudde Abayisirayeli ne mbawonya eggwanga eribasinga amaanyi. Balijja ne bayimba n'essanyu ku Lusozi Siyooni. Era balisanyukira ebirabo bye mbawa eby'eŋŋaano n'omwenge gw'emizabbibu, n'omuzigo gw'emizayiti, n'ebirabo eby'embuzi n'ente. Baliba ng'ennimiro efukirirwa amazzi, tebaliba na buyinike n'akatono. Abawala balisanyuka ne bazina, n'abasajja abavubuka n'abakadde balisanyuka. Ndibakubagiza ne mbasanyusa, ne mbaggya mu buyinike bwabwe. Bakabona ndibawa ebyassava bingi ne bibanyiwa. Abantu bange ndibajjuza ebirungi. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Mu Raama baawulira eddoboozi, okukaaba n'okukungubaga okungi, Raakeeli ng'akabira abaana be era nga tayagala akubagizibwe, kubanga tebakyaliwo. Lekera wo okwaziirana era weesangule amaziga. Byonna by'okoledde abaana bo biriweerwa empeera. Balikomawo okuva mu nsi y'omulabe. Waliwo essuubi mu biseera byo ebijja. Abaana bo balikomawo mu nsi yaaboobwe. Nze Mukama, Nze njogedde. “Mpulira Abayisirayeli abakaaba nga banakuwavu, nti: ‘Twali ng'ensolo etaatendekebwa, naye otuyigirizza okuwulira! Twetegese okudda gy'oli, kubanga ggwe Mukama Katonda waffe. Twakukuba amabega, naye twenenya mangu. Bwe watubonereza, ne twekuba mu kifuba. Twakwatibwa ensonyi ne tuswala, kubanga twayonoona tukyali bato.’ “Yisirayeli, ggwe mutabani wange omwagalwa, ggwe mwana wange ansanyusa, kubanga buli lwe nkunenyaako nkulumirwa omwoyo ne nkukwatirwa ekisa. Musimbe obubonero, mulambe ekkubo lye mwayitamu okugenda. Mukomeewo Abayisirayeli, mudde mu bibuga byammwe bye mwaleka. Mulituusa wa okutambula mmwe abantu abateesigibwa? Nga mudda eno n'eri Nze Mukama ntonzeewo ekiggya ku nsi: eky'omukazi okukuuma omusajja.” Mukama Nnannyinimagye Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: “Bwe ndikomyawo Abayisirayeli mu nsi yaabwe, mu Buyudaaya ne mu bibuga byayo, baliddamu okugamba nti: ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, olusozi okuli obutukuvu.’ Abantu balibeera mu Buyudaaya, ne mu bibuga byayo byonna. Mulibeeramu abalimi n'abalunzi abalina amagana. Bonna abakooye, ndibazzaamu endasi. Ndikkusa buli aweddemu amaanyi olw'okulumwa enjala. Kyebanaavanga bagamba nti: ‘Nagenze okwebaka, ne nzuukuka nga nzizeemu amaanyi.’ “Nze Mukama ŋŋamba nti ekiseera kirituuka, ne nzijuza abantu n'ensolo mu nsi ya Yisirayeli ne mu Buyudaaya. Nga bwe nassaayo omwoyo okubasimbula n'okubamenyaamenya, n'okubasuula n'okubazikiriza, n'okubabonyaabonya, bwe ntyo bwe ndissaayo omwoyo okubasimba, n'okubazimba. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, nga tebakyagamba nti: ‘Abazadde baalya emizabbibu eginyuunyuntula, amannyo g'abaana ne ganyenyeera.’ Naye buli alya emizabbibu eginyuunyuntula, amannyo ge, ge galinyenyeera, era buli muntu alifa lwa bibi bye.” Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka lwe ndikola endagaano empya n'abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya. Teriba ng'eyo gye nakola ne bajjajjaabwe, lwe nabakwata ku mukono, ne mbaggya mu nsi y'e Misiri. Newaakubadde nali nga bbaabwe, era tebaakuuma ndagaano eyo. Naye ekiseera bwe kirituuka, eno ye ndagaano gye ndikola n'Abayisirayeli: nditeeka amateeka gange mu bo munda, ngawandiike mu mitima gyabwe. Ndiba Katonda waabwe, ne baba bantu bange. Kiriba tekikyetaagisa buli omu kuyigiriza munne okumanya Mukama, kubanga bonna balimmanya, okuviira ddala ku muto okutuuka ku mukulu. Ndisonyiwa ebibi byabwe, ne nneerabira ensobi zaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama yassaawo enjuba eyakenga emisana. Yalagira omwezi n'emmunyeenye byakenga ekiro. Afuukuula ennyanja, amayengo gaayo ne gayira. Mukama Nnannyinimagye lye linnya lye. Yasuubiza nti entereeza eyo, ng'ekyali bw'etyo mu maaso ge, n'ezzadde lya Yisirayeli liriba ggwanga. Lwe kiriyinzika okupima eggulu n'okuzuula emisingi gy'ensi, olwo ne Mukama lw'aliyinza okusuula Abayisirayeli bonna olwa byonna bye baakola. Mukama ye ayogedde. Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ekibuga Yerusaalemu lwe kirizimbirwa Mukama, okuva ku munaala gwa Anameli, okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda. Ensalo yaakyo n'eva awo n'egenda okutuuka ku kasozi Garebu, ate n'ekyuka okudda ku Gowa. Ekiwonvu kyonna, abafu mwe baziikibwa, n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kedurooni, n'okutuuka ku nsonda y'Omulyango gw'Embalaasi, okwolekera ebuvanjuba, biriwongerwa Nze Mukama. Ekibuga ekyo tekiriddayo kumenyebwa, wadde okuzikirizibwa ennaku zonna.” Mukama n'ayogera nange mu mwaka ogw'ekkumi nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, era nga gwe mwaka ogw'ekkumi n'omunaana, nga Nebukadunezzari ye kabaka wa Babilooniya. Mu kiseera ekyo, eggye lya kabaka wa Babilooniya lyali lizingizza Yerusaalemu, nga nange nsibiddwa mu luggya lw'olubiri. Zeddeekiya kabaka wa Buyudaaya yali ansibye ng'anvunaana okulangirira nti Mukama agambye nti: “Nja kuwaayo ekibuga kino mu mikono gya kabaka wa Babilooniya. Ne Zeddeekiya kabaka wa Buyudaaya, talisumattuka Bakaludaaya. Aliweebwayo eri kabaka wa Babilooniya, n'amulabira ddala yennyini, era n'ayogera naye butereevu. Zeddeekiya alitwalibwa e Babilooni, n'abeerayo okutuusa lwe ndimujjukira. Ne bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Anameli mutabani wa Sallumu kojjaawo, wuuyo ajja gy'oli okukusaba ogule ennimiro ye eri mu Anatooti, kubanga ggwe wooluganda olw'okumpi, asaanidde okugigula.” Awo Anameli n'ajja gye ndi mu luggya, nga Mukama bwe yali agambye, n'ansaba okugula ennimiro. Ne ngula ennimiro eyo ku Anameli, ne musasula ensimbi, eziweza ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza. Ne nteeka omukono ku ndagaano, ne ngisiba, ne mpita abajulizi, ne mmupimira ffeeza mu minzaani. Awo ne nkwata endagaano y'obuguzi nga nsibe, ne kopi yaayo nga si nsibe, ng'etteeka n'empisa bwe biri, ne mbikwasa Baruku, mutabani wa Neriya era muzzukulu wa Naseya. Nabimukwasa nga waliwo Anameli n'abajulizi bonna abassa emikono gyabwe ku ndagaano eyo, era nga waliwo Abayudaaya bonna abaali batudde mu luggya lw'olubiri. Ne nkuutira Baruku mu maaso gaabwe, nga ŋŋamba nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli akulagidde okutwala endagaano zino: endagaano eyo ey'obuguzi ensibe, ne kopi eteri nsibe, ozitereke mu kintu ekibumbe, zisobole okukuumibwa emyaka mingi, kubanga Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agambye nti amayumba, n'ebibanja, n'ennimiro z'emizabbibu, biriddamu okugulibwanga mu nsi eno.” Awo nga mmaze okuwa Baruku mutabani wa Neriya endagaano ey'obuguzi, ne nsaba Mukama nti: “Ayi Mukama Katonda, watonda eggulu n'ensi ng'okozesa obuyinza bwo obungi n'amaanyi go. Tewali kikulema. Olaga abantu enkumi n'enkumi ekisa, naye n'obonereza abaana olw'ebibi by'abazadde baabwe. Ayi Katonda, oli mukulu era wa maanyi. Mukama Nnannyinimagye lye linnya lyo. By'oteesa bikulu, era by'okola bya maanyi. Olaba buli kimu, abantu kye bakola, era n'obawa empeera okusinziira ku bye bakola. Edda wakola ebyewuunyo n'ebyamagero mu nsi y'e Misiri, era n'oyongera okubikola n'okutuusa kati, mu Yisirayeli ne mu mawanga amalala gonna. Bw'otyo n'omanyibwa kati buli wantu. Olw'ebyewuunyo n'ebyamagero ebyatiisa abalabe baffe, wakozesa obuyinza bwo n'amaanyi go, n'oggya abantu bo Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri. Wabawa ensi eno engimu era engagga nga bwe wagisuubiza bajjajjaabwe. Naye bwe baagiyingiramu ne bagifuna, tebaakwata biragiro byo, wadde okukolera ku by'oyigiriza. Tebaabaako kye bakola ku ebyo bye wabalagira okukola. Kyewava obatuusa ku kuzikirira kuno kwonna. “Abakaludaaya bakoze entuumu okutaayiza ekibuga bakiwambe, era bakirumbye. Olw'olutalo n'enjala era n'endwadde, ekibuga kiweereddwayo mu mikono gyabwe. Era olaba nga byonna bye wayogera bituukiridde. Naye ate, ayi Mukama Katonda, ggwe ondagidde okwegulira ennimiro nga waliwo n'abajulizi, newaakubadde ng'ekibuga kinaatera okuwambibwa Abakaludaaya.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Nze Mukama Katonda w'abantu bonna. Tewali kintu na kimu kinzibuwalira. Nja kuwaayo ekibuga kino mu mikono gya Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni, ne mu mikono gya basajja be Abakaludaaya. Bajja kukiwamba, era bakyokye omuliro. Era balyokya n'amayumba, abantu ge bansunguwalizaamu nga bootereza lubaale Baali obubaane waggulu ku mayumba ago, era nga bafuka ebyokunywa bye bawaayo eri balubaale. Abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya okuviira ddala eggwanga lyabwe lwe lyatandikawo, bannyiiza era bansunguwaza olw'ebyo bye bakola. Abantu b'omu kibuga kino bansunguwaza nnyo okuviira ddala lwe kyazimbibwa. Nsazeewo okukizikiriza, olw'ebibi byonna abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Yerusaalemu bye baakola, awamu ne bakabaka baabwe n'abakungu, ne bakabona era n'abalanzi baabwe. Bandaga nkoona, era newaakubadde nga nabayigirizanga awatali kwosa, naye tebakkiriza kuwuliriza bayige. Baateeka n'ebyenyinyalwa mu nnyumba, eyazimbirwa okunsinzirizangamu, ne bagyonoona. Baazimbira Baali alutaari mu Kiwonvu kya Hinnomu, okutambiranga batabani baabwe ne bawala baabwe eri lubaale Moleki. Sibalagiranga kukola ekyo era sirowoozangako nti bandikoze ekyenyinyalwa ng'ekyo, okukozesa abantu b'omu Buyudaaya ekibi.” Mukama, Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, abantu bagamba nti olutalo, n'enjala, n'endwadde bijja kuweesaayo ekibuga mu mikono gya kabaka wa Babilooniya. Kaakano ŋŋamba nti: nja kukuŋŋaanya abantu bange okubaggya mu nsi zonna gye nabasaasaanyiza nga mbasunguwalidde nnyo, era nga mbakambuwalidde, mbakomyewo mu kifo kino, mbaleke bakibeeremu mirembe. Olwo baliba bantu bange, Nze ne mba Katonda waabwe. Ndibawa omutima gumu n'ekiruubirirwa kimu, kwe kunzisangamu ekitiibwa ennaku zonna, balyoke babenga bulungi, bo n'abaana baabwe abaliddawo. Ndikola nabo endagaano ey'olubeerera, siirekengayo kubakolera birungi. Ndibasobozesa okunzisangamu ekitiibwa, balemenga kunvaako. Nnaasanyukiranga okubakolera ebirungi, era ndibanywereza ddala mu nsi eno. “Nga bwe ntuusizza akabi kano akanene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibawa ebirungi byonna bye nabasuubiza. Abantu bagamba nti ensi eno efuuse nga ddungu, nga teriimu bantu, wadde ensolo, era ejja kuweebwayo mu mikono gy'Abakaludaaya. Naye ebibanja binaagulibwanga mu nsi eno. Ebibanja binaagulwanga, endagaano ne zissibwangako emikono, ne ziteekebwako n'akabonero nga waliwo n'abajulizi mu kitundu kya Benyamiini, ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemu, ne mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu bibuga eby'omu kitundu eky'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsenyi, ne mu bibuga eby'omu bukiikaddyo. Ndikomyawo abantu mu nsi yaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.” Bwe nali nga nkyasibiddwa mu kkomera mu luggya lw'olubiri, Mukama n'ampa obubaka bwe nate. Mukama eyatonda ensi n'agibumba, n'agitereeza mu kifo kyayo erinnya lye nga ye Mukama, yaŋŋamba nti: “Mpita, nnaakuyitaba, ne nkutegeeza ebikulu n'ebikisiddwa, by'otomanyi. Nze Mukama Katonda wa Yisirayeli, ŋŋamba nti amayumba g'omu Yerusaalemu, n'olubiri lwa bakabaka ba Buyudaaya, bya kumenyebwa. Ekyo kye kinaava mu ntuumu ezibeetooloozeddwa, era ne mu kulumbibwa. Okulwanyisa Abakaludaaya, kijja kuba kujjuza bujjuza kibuga mirambo gya bantu, be ŋŋenda okutta mu busungu bwange n'ekiruyi. Ekibuga kino nkikubye amabega, olw'ebibi byonna abantu baamu bye bakoze. Naye ndizzaamu ekibuga kino obulamu ne nkiwonya. Abaamu ndibalaga emirembe emingi ne baba bulungi. Ndizzaawo ebirungi mu Buyudaaya ne mu Yisirayeli, byonna mbizimbe biddewo nga bwe byali edda. Abantu ndibanaazaako ebibi byabwe byonna bye baakola mu maaso gange, era ndibasonyiwa ensobi zaabwe n'obujeemu bwabwe. Ekibuga kino kirinsanyusa ne kimpeesa ekitiibwa n'ettendo. Ab'omu mawanga gonna agali ku nsi, balitya ne bakankana bwe baliwulira ebirungi byonna bye nkolera ab'omu Yerusaalemu, n'emirembe gyonna gye mbawa.” Mukama n'agamba nti: “Abantu bagamba nti ekifo kino kifuuse ng'eddungu, nga tekiriimu muntu wadde ensolo. Ddala batuufu. Ebibuga bya Buyudaaya, n'enguudo za Yerusaalemu bizise, tebikyabeeramu muntu wadde ensolo. Naye mu bifo ebyo, muliddamu okuwulirwa amaloboozi ag'essanyu n'okujaguza, n'ebinyumu by'oku mbaga z'obugole. Abantu baliwulirwa nga bayimba, nga bwe baleeta mu Ssinzizo lyange ebirabo eby'okwebaza nga bagamba nti: ‘Mwebaze Mukama Nnannyinimagye kubanga mulungi, n'ekisa kye kya mirembe gyonna.’ Ndizzaawo ebirungi mu nsi eno, nga bwe byali mu kusooka. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Ensi eno efuuse ng'eddungu, nga teriimu bantu wadde ensolo, eriddamu okubaamu amalundiro, abasumba mwe bakuumira amagana gaabwe. Abasumba baliddamu okubalira ebisolo byabwe mu bibuga by'omu kitundu eky'ensozi, n'eby'omu kitundu eky'ensenyi, n'eby'omu bukiikaddyo, ne mu kitundu kya Benyamiini, ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemu, ne mu bibuga bya Buyudaaya. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Ekiseera kijja kutuuka, lwe ndituukiriza ebyo bye nasuubiza ab'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya. Mu kiseera ekyo, ndironda muzzukulu wa Dawudi, nga mwenkanya, n'aba kabaka. Era kabaka oyo alikola eby'obwenkanya n'eby'amazima mu nsi. Ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu balirokolebwa, era baliba mirembe. Era ekibuga ekyo kirituumibwa erinnya ‘Mukama ye atulokola.’ Nze Mukama, nsuubiza nti bulijjo wanaabangawo muzzukulu wa Dawudi anaabanga kabaka wa Yisirayeli. Era bulijjo wanaabangawo bakabona ab'omu kika kya Leevi abanampeerezanga okuwaayo ebirabo ebyokebwa, n'ebirabo eby'emmere ey'empeke era n'ebitambiro.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Nakola endagaano eteyinza kumenyebwa nti obudde obw'emisana, n'obudde obw'ekiro bunaabeerangawo mu biseera byabwo. Bwe ntyo era bwe nkoze endagaano nti omuweereza wange Dawudi, bulijjo anaabanga ne muzzukulu we afugira ku ntebe ye ey'obwakabaka. Era bwe ntyo bwe nkoze endagaano nti bakabona ab'omu kika kya Leevi banampeerezanga bulijjo. Ng'emmunyeenye ez'oku ggulu bwe zitayinza kubalika, era ng'omusenyu gw'oku lubalama lw'ennyanja bwe gutayinza kupimika, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuweereza wange, ne bakabona ab'omu Kika kya Leevi.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, tonnaba kuwulira bantu bwe bagamba nti nsudde Yisirayeli ne Buyudaaya, amaka gombi ge nalonda? Bwe batyo bwe banyoomoola abantu bange, nga tebakyababala nga ggwanga. Naye endagaano gye nakola nti obudde obw'emisana n'obudde obw'ekiro bunaabangawo mu biseera byabwo, bw'erimenyebwa, kale olwo nange ndisuula ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuweereza wange, ne sironda omu ku bazzukulu be kufuganga bazzukulu ba Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. Ddala ndikwatirwa ekisa abantu bange, ne baddamu okuba obulungi.” Mukama yayogera nange, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni n'eggye lye, awamu n'amagye gonna agaava mu nsi zonna, ne mu mawanga gonna Nebukadunezzari g'afuga bwe baalumba Yerusaalemu n'ebibuga ebikiriraanye. Mukama Katonda wa Yisirayeli yandagira okugenda ŋŋambe Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya nti: “Nze Mukama, ndiwaayo ekibuga kino mu mikono gya kabaka wa Babilooni, era alikyokya omuliro. Naawe toliwona. Olikwatibwa n'oweebwayo mu mikono gye. Olimulaba maaso na maaso, era olyogera naye yennyini, era oligenda e Babilooni. “Zeddeekiya, wulira bye ŋŋamba ebifa ku ggwe. Tolittirwa mu lutalo. Olifa mirembe. Era ng'abantu bwe baayotereza obubaane nga baziika bajjajjaabo, bassekabaka, naawe bwe balikwotereza obubaane. Balikukungubagira nga bagamba nti: ‘Kabaka waffe afudde!’ Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo ne mpa Kabaka Zeddeekiya obubaka obwo mu Yerusaalemu, ng'eggye lya kabaka wa Babilooni lirumbye ekibuga ekyo, era nga lirumbye ne Lakisi ne Azeka, ebibuga byokka ebya Buyudaaya ebyali bikyanywezeddwa. Kabaka Zeddeekiya yali akkaanyizza n'abantu bonna ab'omu Yerusaalemu okuta abaddu. Buli muntu yali wa kuta abaddu be n'abazaana be Abeebureeyi, waleme kubaawo afuga Mwebureeyi munne buddu. Awo abantu bonna n'abakungu baabwe nga bakkaanyizza okuta abaddu baabwe n'abazaana baabwe, obutaddayo kubafuga buddu, ne babata. Naye oluvannyuma ne bakyusa ebirowoozo byabwe, ne bakomyawo abaddu be baali batadde, ne baddamu okubafuga obuddu. Awo Mukama Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba okutegeeza abantu nti: “Nakola ne bajjajjammwe endagaano, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri, gye baali mu buddu. Ne mbagamba nti buli myaka musanvu, banaatanga buli muddu Omwebureeyi anaabanga abaweerezza emyaka mukaaga, n'aba wa ddembe. Naye bajjajjammwe ne batampulira, era ne batassaayo mwoyo. Nammwe ennaku ntono eziyise, mwali mukyuse, ne mukola ekinsanyusa, buli omu ku mmwe bwe yalangirira nga bw'atadde ab'eggwanga lye okuba ab'eddembe, era ne mukola endagaano mu maaso gange mu Ssinzizo lyange. Naye ate ne mukyusa ebirowoozo byammwe, ne munvumaganya. Buli omu mu mmwe n'akomyawo abaddu n'abazaana, be yali atadde okugenda nga ba ddembe nga bwe baagala, ne mubawaliriza okuddamu okufugibwa obuddu. Nze Mukama ŋŋamba nti munjeemedde, ne mutawa bantu ba ggwanga lyammwe ddembe lyabwe. Kale kaakano Nze nja kubawa mmwe eddembe: eddembe okukwatirwa mu lutalo, oba okufa endwadde, oba okufa enjala. Ndyesisiwaza ab'amawanga gonna olw'ebyo bye ŋŋenda okubakolako mmwe. Ndibawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe abaagala okubatta, era emirambo gyabwe giririibwa ebinyonyi n'ebisolo. Era ndiwaayo Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya n'abakungu be, mu mikono gy'abo abaagala okubatta. Ndibawaayo eri eggye ly'Abakaludaaya, erirekedde awo okubalumba mmwe. Ndiragira, ne bakomawo okulumba ekibuga kino, era balikirwanyisa, ne bakiwamba, era ne bakyokya omuliro. Era ebibuga bya Buyudaaya ndibifuula matongo, ne wataba abibeeramu. Nze Mukama, Nze njogedde.” Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya bwe yali nga ye kabaka wa Buyudaaya, Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, genda eri ab'ekika kya Rehabu, oyogere nabo, obayingize mu kisenge ekimu mu Ssinzizo, obawe omwenge ogw'emizabbibu banywe.” Kale ne ntwala Abarehabu bonna: Yaazaniya, mutabani wa Yeremiya, omwana wa Habaziniya, ne baganda be, ne batabani be bonna, ne mbayingiza mu Ssinzizo, mu kisenge ky'abayigirizwa b'omulanzi Anani, mutabani wa Yigudaliya. Ekisenge kino kyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya, mutabani wa Sallumu omuggazi, era okumpi n'ekisenge ky'abakungu. Ne nteeka amacupa g'omwenge gw'emizabbibu n'ebikopo mu maaso g'Abarehabu, ne mbagamba nti: “Munywe omwenge gwe mizabbibu.” Naye bo ne baddamu nti: “Tetujja kunywa mwenge gwa mizabbibu, kubanga jjajjaffe Yonadaabu, mutabani wa Rehabu, yatugamba ffe, n'ezzadde lyaffe, obutanywanga mwenge gwa mizabbibu. Era yatugamba obutazimbanga mayumba, n'obutalimanga n'obutasimbanga nnimiro za mizabbibu, wadde okuzigula. Yatulagira kubeeranga mu weema bulijjo, tulyoke tusigalenga mu nsi gye tubeeramu, nga tuli ng'abayise. Era twawulira ebyo byonna Yonadaabu bye yatukuutira. Tetunywera ddala ku mwenge, ffe ne bakazi baffe, ne batabani baffe, ne bawala baffe. Tetwezimbira mayumba ga kubeeramu, era tetuba na nnimiro za mizabbibu, newaakubadde ebibanja, wadde ensigo. Naye tubeera mu weema. Twawulira era ne tutuukiriza byonna, jjajjaffe Yonadaabu bye yatulagira. Naye Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni bwe yalumba ensi eno, ne tusalawo okujja e Yerusaalemu olw'okutya eggye ly'Abakaludaaya, n'eggye ly'Abasiriya, kyetuva tubeera mu Yerusaalemu.” Bazzukulu ba Yonadaabu mutabani wa Rehabu baawulira kye yalagira, obutanywanga mwenge gwa mizabbibu, era n'okutuusa kaakati tebagunywerako ddala n'akatono. Naye Nze njogedde nammwe awatali kwosa, naye mmwe temumpuliriza. Siyosanga kubatumira baweereza bange abalanzi, ne babagamba nti buli omu mu mmwe alekeyo empisa ze embi, era akole ebituufu. Temuugobererenga era temuuweerezenga balubaale, mulyoke mubeerenga mu nsi gye nabawa mmwe, ne bajjajjammwe. Naye temumpulirizanga era temussangayo mwoyo. Bazzukulu ba Yonadaabu mutabani wa Rehabu batuukirizza ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bange tebafuddeeyo ku kye mbalagira. Kale kaakano Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, ndituusa ku mmwe abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu akabi konna ke nagamba okubatuusaako, kubanga nayogera nammwe, ne mutawuliriza, era nabayita, ne mutayitaba.” Awo ne ŋŋamba Abarehabu nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agambye nti: ‘Nga bwe mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjammwe, ne mukwata byonna bye yabakuutira, era ne mutuukiriza byonna nga bwe yabalagira, Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nsuubiza nti Yonadaabu mutabani wa Rehabu, bulijjo anaabanga ne muzzukulu we ow'obulenzi okumpeerezanga ennaku zonna.’ ” Mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, Mukama n'aŋŋamba nti: “Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiikeko byonna bye nkutegeezezza, ebifa ku Yisirayeli ne ku Buyudaaya, ne ku mawanga gonna, okuva ku lunaku lwe natandika okwogera naawe, nga Yosiya ye kabaka, n'okutuusa kati. Oboolyawo abantu b'omu Buyudaaya bwe baliwulira ku kabi konna ke nteesa okubatuusaako, balikyuka ne bava mu mpisa zaabwe embi, ne mbasonyiwa ebibi byabwe n'emisango gyabwe.” Awo ne mpita Baruku mutabani wa Neriya, ne mubuulira byonna Mukama bye yayogera nange, n'abiwandiika ku muzingo gw'ekitabo. Awo ne ndagira Baruku nti: “Sikyakkirizibwa kuyingira mu Ssinzizo. Kale ggwe gendayo, ku lunaku abantu lwe basiibirako, osome mu lwatu, bonna bawulire ebigambo bya Mukama bye nkutegeezezza n'obiwandiika ku muzingo gw'ekitabo. Obisome nga n'abo bonna abavudde mu bibuga byabwe ebirala eby'omu Buyudaaya bawulira. Oboolyawo balyegayirira Mukama, ne bava mu mpisa zaabwe embi, kubanga Mukama by'agambye okubakolako mu busungu ne mu kiruyi kye, binene.” Awo Baruku mutabani wa Neriya n'akola nga bwe namulagira. N'asoma mu muzingo gw'ekitabo, ebigambo bya Mukama mu Ssinzizo. Mu mwezi ogw'omwenda ogw'omwaka ogwokutaano nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, baalangirira ekisiibo mu maaso ga Mukama. Abantu bonna ab'omu Yerusaalemu, n'abajjayo nga bava mu bibuga ebirala ebya Buyudaaya, ne basiiba. Awo Baruku n'asoma mu muzingo gw'ekitabo, ebigambo byonna bye namugamba. Yabisomera mu Ssinzizo, ng'ali mu kisenge kya Gemariya, mutabani wa Safani era omuwandiisi, ekyali waggulu w'oluggya, okumpi n'Omulyango Omuggya ogw'Essinzizo. Awo Mikaaya mutabani wa Gemariya, era muzzukulu wa Safani, n'awulira Baruku ng'asoma mu muzingo gw'ekitabo, ebigambo byonna Mukama bye yayogera. N'aserengeta mu lubiri, n'atuuka mu kisenge ky'omuwandiisi, abakungu bonna mwe baali batudde. Elisaama omuwandiisi, ne Delaaya mutabani wa Semaaya, ne Elunatani mutabani wa Akuboori, ne Gamariya mutabani wa Safani, ne Zeddeekiya mutabani wa Ananiya, n'abakungu abalala bonna, baaliyo. Mikaaya n'ababuulira byonna bye yawulira nga Baruku abisomera abantu. Awo abakungu ne batuma Yehudi, mutabani wa Netaniya, muzzukulu wa Selemiya, era muzzukulu wa Kuusi, okugamba Baruku okuleeta omuzingo gw'ekitabo gwe yasomera abantu. Baruku n'aguleeta. Ne bamugamba nti: “Tuula, obisome nga tuwulira.” Baruku n'abisoma nga bawulira. Bwe baamala okubiwulira byonna, ne batunulaganako nga batidde. Ne bagamba Baruku nti: “Ebigambo ebyo byonna tetuuleme kubitegeeza kabaka.” Awo ne babuuza Baruku nti: “Tubuulire, wasobodde otya okuwandiika ebigambo ebyo byonna? Yeremiya ye yabikugambye, ggwe nga bw'owandiika?” Baruku n'addamu nti: “Yeremiya yennyini ye yambuulidde ebigambo ebyo, ne nkwata akafumu ne bwino ne mbiwandiika.” Abakungu ne bagamba Baruku nti: “Ggwe ne Yeremiya mugende mwekweke, waleme kubaawo amanya gye muli.” Awo abakungu ne batereka omuzingo gw'ekitabo mu kisenge kya Elisaama omuwandiisi, ne bagenda eri kabaka mu luggya, ne bamutegeeza byonna. Kabaka n'atuma Yekudi aleete omuzingo gw'ekitabo. Yehudi n'aguggya mu kisenge kya Elisaama omuwandiisi, n'agusomera kabaka n'abakungu be bonna abaali bayimiridde nga bamwetoolodde. Gwali mwezi gwa mwenda. Kabaka yali atudde mu maaso g'ekyoto omuli omuliro ogwaka, mu nnyumba mw'abeera mu budde obw'obutiti. Awo Yehudi bwe yamalanga okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'azisazisaako akambe k'omuwandiisi, n'azisuula mu muliro, okutuusa omuzingo gw'ekitabo gwonna lwe gwaggyiira mu muliro. Naye kabaka, wadde omu bw'ati ku bakungu be abaawulira ebigambo ebyo byonna, tebaatya wadde okulaga akabonero konna ak'okunakuwala. Newaakubadde nga Elunatani ne Delaaya ne Gemariya beegayirira kabaka aleme kwokya muzingo gwa kitabo, kyokka teyabawuliriza. Awo n'alagira omulangira Yerameeli, ne Seraya mutabani wa Azuriyeeli, ne Selemiya mutabani wa Abudeeli okukwata Baruku omuwandiisi, nange, Yeremiya omulanzi. Kyokka Mukama n'atukweka. Nga kabaka amaze okwokya omuzingo gw'ekitabo, omwali ebigambo bye nabuulira Baruku n'abiwandiika, Mukama n'aŋŋamba nti: “Ddira omuzingo gw'ekitabo omulala, oguwandiikeko ebigambo byonna ebyali ku guli, Yehoyakiimu kabaka wa Buyudaaya gw'ayokezza. Era kabaka oyo omugambe nti: ‘Oyokezza omuzingo gw'ekitabo, n'obuuza Yeremiya kyeyava awandiika nti kabaka w'e Babilooni alijja n'azikiriza ensi eno, n'atta n'amalamu abantu n'ensolo. Kale kaakano, Nze Mukama nkugamba ggwe Kabaka Yehoyakiimu nti toliba na wa zzadde lyo alifuga bwakabaka bwa Dawudi. Omulambo gwo gulisuulibwa wabweru, gubeerenga mu bbugumu emisana, ate mu mpewo ekiro. Ndikubonereza ggwe n'ezzadde lyo, era n'abakungu bo olw'ebibi bye mwakola. Ndituusa ku mmwe ne ku batuuze b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya akabi konna ke nagamba okubatuusaako, kubanga nabalabula ne mutafaayo.’ ” Awo ne nzirira omuzingo gw'ekitabo omulala, ne nguwa Baruku omuwandiisi wange, n'awandiika byonna ebyali mu muzingo gw'ekitabo Yehoyakiimu gwe yayokya mu muliro, nga kwongeddwako n'ebirala bingi ebibifaanana. Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni, obwakabaka bwa Buyudaaya yabuwa Zeddeekiya mutabani wa Yosiya, mu kifo kya Yehoyakiini, mutabani wa Yehoyakiimu. Naye Zeddeekiya n'abakungu be era n'abantu abalala mu ggwanga, tebaawulira bubaka, Mukama bwe yayogerera mu nze. Awo Kabaka Zeddeekiya n'antumira Yehukaali mutabani wa Selemiya, ne kabona Zefaniya, mutabani wa Maaseya, n'aŋŋamba nti: “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.” Nali sinnateekebwa mu kkomera, era nga ntambula nga bwe njagala mu bantu. Abakaludaaya baali bazingizizza Yerusaalemu. Naye bwe baawulira ng'eggye lya Misiri livudde mu Misiri, ne bavaawo. Awo Mukama Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba nti: “Kabaka wa Buyudaaya eyakutuma gye ndi okumbuuza, mugambe nti: ‘Eggye lya Misiri eribadde lijja okubayamba, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri. Era Abakaludaaya bajja kudda, balumbe ekibuga kino bakiwambe, era bakyokye omuliro. Nze Mukama mbalabula muleme kwerimba nti Abakaludaaya tebajja kudda, kubanga bajja kudda. Ne bwe munaawangula eggye lyonna ery'Abakaludaaya ababalwanyisa, ne wasigalwo mu bo ab'ebiwundu bokka, abagalamidde mu weema zaabwe, era abo banaagolokoka ne bookya ekibuga kino omuliro.’ ” Eggye ly'Abakaludaaya bwe lyava e Yerusaalemu, ng'eggye ly'Abamisiri lisembedde, ne nva mu Yerusaalemu okugenda mu kitundu kya Benyamiini okufuna omugabo gwange mu bantu bange. Naye bwe natuuka mu Mulyango gwa Benyamiini, omukulu w'abakuumi eyali awo, erinnya lye Yiriya, mutabani wa Selemiya, era muzzukulu wa Ananiya, n'annyimiriza ng'agamba nti: “Otoloka weegatte ku Bakaludaaya!” Ne nziramu nti: “Sitoloka kwegatta ku Bakaludaaya.” Naye Yiriya n'atampuliriza, wabula n'ankwata era n'antwala eri abakungu. Abakungu ne bankambuwalira ne bankuba, era ne bansibira mu nnyumba ya Yonataani omuwandiisi, kubanga ennyumba eyo gye baali bafudde ekkomera. Banteeka mu kasenge ak'omu bunnya ne mmalamu ennaku nnyingi. Awo kabaka Zeddeekiya n'antumya. Era nga tuli mu lubiri, kabaka n'ambuza mu kyama nti: “Waliwo obubaka obuvudde eri Mukama?” Ne nziramu nti: “Weebuli. Ojja kuweebwayo mu mikono gya kabaka wa Babilooni.” Awo ne mbuuza Kabaka Zeddeekiya nti: “Kibi ki kye nakukola ggwe, oba kye nakola abaweereza bo, oba abantu bano, olyoke onsibe mu kkomera? Abalanzi bammwe bali ludda wa abaabalagula nti kabaka w'e Babilooni talibalumba mmwe, wadde okulumba ensi eno? Kale kaakano, Ssaabasajja, nkwegayiridde, okkirize kye nkusaba: tonzizaayo mu nnyumba ya Yonataani, nneme okufiira omwo.” Awo Kabaka Zeddeekiya n'alagira, ne bansibira mu luggya lw'olubiri. Ne mbeera omwo, ne mpeebwanga buli lunaku omugaati gumu, okuva mu bafumbi b'emigaati, okutuusa emigaati gyonna lwe gyaggwaawo mu kibuga. Awo Safatiya mutabani wa Mattani, ne Gadaliya mutabani wa Pasuhuuri, ne Yuhukaali mutabani wa Selemiya, ne Pasuhuuri mutabani wa Malukiya, ne bawulira ebigambo bye nategeeza abantu bonna nti Mukama agamba nti: “Buli anaasigala mu kibuga kino, wa kufiira mu lutalo, oba anaafa enjala, oba endwadde. Naye buli anaafuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya, tattibwe. Oyo waakiri anaawonya obulamu bwe.” Era ne mbagamba nti Mukama agambye nti: “Tewali kubuusabuusa, ekibuga kino nja kukiwaayo eri eggye ly'Abakaludaaya likiwambe.” Awo abakungu abo ne bagamba kabaka nti: “Omusajja ono attibwe, kubanga abaserikale era n'abantu abalala abasigadde mu kibuga kino, abamalamu amaanyi ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo. Omusajja ono tayagaliza bantu bano mirembe, wabula akabi.” Kabaka Zeddeekiya n'abaddamu nti: “Wuuyo, ali mu mikono gyammwe. Nze nga kabaka, sirina kye nnyinza kubaziyiza.” Awo ne bankwata, ne banzisa n'emiguwa mu luzzi lw'omulangira Malukiya, olwali mu luggya lw'olubiri, nga teruliimu mazzi, wabula ettosi. Naye Ebedumeleki Omwetiyopiya omulaawe, eyakolanga mu lubiri lwa kabaka, n'awulira nti bansudde mu luzzi. Mu kiseera ekyo, kabaka yali mu lukiiko ku Mulyango gwa Benyamiini. Awo Ebedumeleki n'agendayo n'agamba kabaka nti: “Ssaabasajja, basajja bo bakoze bubi nnyo. Yeremiya omulanzi bamusudde mu luzzi, mw'ajja okufiira enjala, kubanga tewakyali mmere mu kibuga.” Awo kabaka n'alagira Ebedumeleki Omwetiyopiya nti: “Genda n'abasajja basatu, muggyeyo omulanzi Yeremiya mu luzzi, nga tannafa.” Ebedumeleki n'agenda n'abasajja abo, n'ayingira mu ggwanika ly'omu lubiri, n'aggyayo ebigoye ebikadde ebiyulise, n'abinsuulira mu luzzi, ng'abissiza ku muguwa. Awo Ebedumeleki Omwetiyopiya n'aŋŋamba nti: “Ebigoye ebyo ebikadde, era ebiyulifu, biteeke mu nkwawa zo, emiguwa gireme kukusala.” Ne nkola bwe ntyo. Ne bansikayo mu luzzi nga bakozesa emiguwa, ne nkuumirwa mu luggya. Awo Kabaka Zeddeekiya n'antumya okujja gy'ali ku mulyango ogwokusatu ogw'Essinzizo, n'aŋŋamba nti: “Nnina kye njagala okubuuza, era okinziremu nga tonkisa.” Ne nziramu nti: “Bwe nnaakubuulira nga sikukisa ojja kunzita, era bwe nnaakuwa amagezi, tojja kumpuliriza.” Awo Kabaka Zeddeekiya n'andayirira mu kyama nti: “Ndayidde Katonda Nnannyinibulamu, era eyatuwa obulamu, nti sijja kukutta era sijja kukuwaayo eri abo abatakwagaliza bulamu.” Awo ne ndyoka ŋŋamba Zeddeekiya nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Bw'onoofuluma n'ogenda weewaayo eri abakungu ba kabaka wa Babilooni, onoowonya obulamu bwo, era ekibuga kino tekijja kwokebwa muliro. Ggwe n'ab'ennyumba yo mujja kuba balamu. Naye bw'onoogaana okufuluma era n'oteewaayo eri abakungu ba kabaka wa Babilooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo mu mikono gy'Abakaludaaya, bakyokye omuliro, era naawe togenda kubasumattuka.’ ” Awo Kabaka Zeddeekiya n'addamu nti: “Ntya Abayudaaya abeewaayo mu Bakaludaaya. Nnyinza okuweebwayo mu mikono gyabwe ne bambonyaabonya.” Naye nze ne ŋŋamba nti “Tojja kuweebwayo. Nkwegayiridde, gondera obubaka bwa Mukama mu ekyo kye nkugamba, lw'onoobeera obulungi, era onoowonya obulamu bwo. Naye bw'onoogaana okugenda okwewaayo, kino Mukama ky'andaze nti abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Buyudaaya, bajja kutwalibwa eri abakungu ba kabaka wa Babilooni era bajja kugenda nga bayimba nti: ‘Mikwano gya kabaka be yeesiganga baamuwubisa bwe baamulimbalimba. Balabye atubidde mu bitosi, kaakati bo beddukidde.’ “Era bajja kufulumya bakazi bo bonna n'abaana bo babaweeyo eri Abakaludaaya. Era naawe wennyini tojja kubeesumattulako, naye bajja kukuwamba, bakuweeyo eri kabaka w'e Babilooni, ate ekibuga kino kyokebwe omuliro.” Awo Zeddeekiya n'aŋŋamba nti: “Tobaako n'omu gw'obuulirako ku bigambo ebyo, olwo tootuukibweko kabi. Abakungu bwe banaawulira nti njogedde naawe, ne bajja okukubuuza bye twogedde, nga bakusuubiza obutakutta singa onoobabuulira byonna, obaddamu nti obadde onsaba butakuzza mu nnyumba ya Yonataani okufiira omwo.” Awo abakungu bonna ne bajja gye ndi ne bambuuza, ne mbaddiramu ddala kabaka bye yali andagidde okwogera. Awo ne bandeka kubanga tewali yali awulidde byayogerwa. Awo ne nsigala mu luggya lw'olubiri okutuusa ku lunaku Yerusaalemu lwe kyawambibwa. Mu mwezi ogw'ekkumi ogw'omwaka ogw'omwenda nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni n'ajja n'eggye lye lyonna, n'alumba Yerusaalemu, n'akizingiza. Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga Zeddeekiya ye kabaka, Abakaludaaya ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga. Awo abakungu ba kabaka wa Babilooni bonna, omwali Nerugalusarezeeri ne Samugaruneebo, ne Sarusekimu Rabusarisi, ne Nerugalusarezeeri Rabumagi, ne bayingira, ne batuula mu Mulyango Ogwawakati. Kabaka Zeddeekiya n'abakungu be bonna bwe baalaba ebiguddewo, ne badduka, bave mu kibuga ekiro. Baayitira mu kkubo ery'omu nnimiro ya kabaka, ne bafulumira mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, ne babomba nga boolekedde Ekiwonvu kya Yorudaani. Naye eggye ly'Abakaludaaya ne libawondera, ne liwambira Zeddeekiya mu nsenyi z'e Yeriko. Awo ne bamutwala eri Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni e Ribula mu kitundu ky'e Amati, n'amusalira omusango. Eyo e Ribula kabaka wa Babilooni gye yattira abaana ba Zeddeekiya nga Zeddeekiya yennyini alaba. N'atta n'abakungu ba Buyudaaya bonna. N'atungulamu Zeddeekiya amaaso, n'amusiba n'enjegere okumutwala e Babilooni. Awo Abakaludaaya ne bookya olubiri lwa kabaka, n'amayumba g'abantu, era ne bamenya ebisenge bya Yerusaalemu. Abantu bonna abaali basigadde mu kibuga, n'abaali badduse ne beewaayo, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye n'abatwala e Babilooni mu busibe. Mu Buyudaaya yalekamu abamu ku baavu abataalina kantu, n'abawa ennimiro z'emizabbibu n'ebibanja. Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni n'alagira Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye nti: “Yeremiya, mutwale omulabirire bulungi, era tomukolako kabi, naye mukolere ky'akusaba.” Awo Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye, ne Nebusazubaani Rabusarisi, ne Nerugalusarezeeri Rabumagi, n'abakungu ba kabaka wa Babilooni abalala, ne bantumya, ne banzigya mu luggya lw'olubiri, ne bankwasa Gedaliya mutabani wa Ahikaamu era muzzukulu wa Safani, antwale ewange. Awo ne mbeera mu bantu bange. Bwe nali nga nkyasibiddwa mu luggya lw'olubiri, Mukama n'aŋŋamba okutegeeza Ebedumeleki Omwetiyopiya nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agambye nti: ‘Nja kutuusa akabi sso si birungi ku kibuga kino, nga bwe nagamba okukola. Kino bwe kinaatuukirira, naawe ojja kukirabako n'amaaso go. Naye Nze Mukama, nja kukuwonya ggwe, era sirikuwaayo mu mikono gy'abantu b'otya. Nja kukutaliza, tojja kuttibwa. Ojja kuwonya obulamu bwo, kubanga onneesize. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ” Awo Mukama n'ayogera nange, nga Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye amaze okunteera mu Raama, gye nali ntwaliddwa nga ndi musibe n'enjegere, awamu n'abantu bonna abaava mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya, ne batwalibwa e Babilooniya nga basibe. Awo omuduumizi w'eggye n'anziza ku bbali, n'aŋŋamba nti: “Mukama Katonda wo yalangirira akabi kano eri ensi eno, era akatuukirizza nga bwe yagamba okukola. Bino byonna biguddewo, kubanga abantu bo baayonoona mu maaso ga Mukama, era baamujeemera. Kale kaakano, laba, nkusumululako enjegere ezisibye emikono gyo. Bw'oyagala okugenda nange e Babilooniya, jjangu tugende, era nja kukulabiriranga bulungi. Naye bw'oba nga toyagala kugenda nange e Babilooni lekayo. Laba ensi yonna eri mu maaso go. Yonna gy'osiima okugenda, era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda.” Awo n'agamba nti: “Oyinza okuddayo eri Gedaliya, mutabani wa Ahikaamu era muzzukulu wa Safani, kabaka wa Babilooniya gw'awadde okufuga ebibuga bya Buyudaaya, oyinza okusigala naye mu bantu, oba oyinza okulaga awalala yonna gy'oyagala.” Awo omuduumizi w'eggye n'ampa ebyokulya, n'ekirabo, n'anta. Ne ŋŋenda eri Gedaliya e Mizupa, ne mbeera naye mu bantu abaalekebwa mu nsi. Abakungu abamu abaali mu byalo ne basajja baabwe, ne bawulira nga kabaka wa Babilooniya awadde Gedaliya mutabani wa Ahikaamu okufuga ensi, n'okulabirira abantu abasingirayo ddala obwavu, abataatwalibwa Babilooniya. Awo Yisimayeli mutabani wa Netaniya, ne Yohanaani mutabani wa Kareya, ne Seraya mutabani wa Tanuhumeti ne batabani ba Efayi ow'e Netafa, ne Yezaniya ow'e Maaka, ne bagenda ne basajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa. Gedaliya n'abalayirira bo ne basajja baabwe ng'agamba nti: “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mukkalire mu nsi eno, muweereze kabaka wa Babilooniya, mujja kuba bulungi. Nze nja kubeera e Mizupa, okubakiikiriranga mmwe, ng'Abakaludaaya bazze gye tuli. Naye mmwe mukuŋŋaanye era mweterekere omwenge gw'emizabbibu, n'ebibala n'omuzigo ogw'emizayiti, mubeere mu bibuga byammwe mukkalire.” Bwe batyo Abayudaaya abalala abaali mu Mowaabu ne mu Ammoni ne mu Edomu, ne mu nsi endala, ne bawulira nga kabaka wa Babilooniya yakkiriza Abayudaaya abamu okusigala mu Buyudaaya era nga Gedaliya gwe yawa okubafuga. Awo ne bava mu bifo byonna gye baali basaasaanidde, ne badda mu Buyudaaya. Ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge gw'emizabbibu era n'ebibala bingi nnyo ddala. Awo Yohanaani mutabani wa Kareya, n'abakulembeze b'abaserikale ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, ne bamugamba nti: “Okimanyi nga Baalisi kabaka wa Ammoni atumye Yisimayeli okukutemula?” Naye Gedaliya n'atakkiriza. Awo Yohanaani n'amugamba mu kyama nti: “Ka ŋŋende nzite Yisimayeli, tewali ajja kumanya amusse. Lwaki yandikusse, Abayudaaya bonna abakukuŋŋaaniddeko ne basaasaana, era n'abantu bonna abasigadde mu Buyudaaya ne bazikirira?” Naye Gedaliya n'addamu nti: “Tokola ekyo. By'oyogera ku Yisimayeli si bituufu.” Mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka ogwo, Yisimayeli, mutabani wa Netaniya, era muzzukulu wa Elisaama, ow'olulyo olulangira, era omu ku bakungu ba kabaka abakulu, n'agenda e Mizupa n'abasajja kkumi okulaba Gedaliya. Bwe baali eyo nga baliira wamu emmere, Yisimayeli n'abasajja ekkumi ne basowolayo ebitala byabwe ne batta Gedaliya, kabaka wa Babilooniya gwe yali awadde okufuga ensi eyo. Yisimayeli era n'atta n'Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, n'abaserikale Abakaludaaya abaasangibwayo Ku lunaku olwaddirira nga tewannabaawo amanya kuttibwa kwa Gedaliya, abasajja kinaana ne batuuka nga bava e Sekemu n'e Siilo n'e Samariya. Baali bamweddeko ebirevu byabwe, nga bayuzizza ebyambalo byabwe, era nga beesaze emisale, nga baleese ebirabo eby'emmere ey'empeke, era n'obubaane eby'okuwaayo mu Ssinzizo. Awo Yisimayeli n'ava e Mizupa okubasisinkana, ng'agenda akaaba amaziga. Bwe yabatuukako, n'abagamba nti: “Mujje mulabe Gedaliya!” Olwali okutuuka mu kibuga wakati, Yisimayeli ne basajja be ne babatta, ne basuula emirambo gyabwe mu luzzi. Naye mu bo mwalimu abasajja kkumi abaagamba Yisimayeli nti: “Tukwegayiridde, totutta. Tulina eŋŋaano ne bbaale, n'omuzigo gw'emizayiti, n'omubisi gw'enjuki ebikwekeddwa mu nnimiro.” Bo n'abaleka, n'atabatta. Oluzzi Yisimayeli mwe yasuula emirambo gy'abasajja be yatta, lwe lugazi, kabaka Asa lwe yali asimye, bwe yalumbibwa Baasa, kabaka wa Yisirayeli. Yisimayeli n'alujjuza emirambo gy'abo abattibwa. Bawala ba kabaka n'abantu bonna abaasigalawo e Mizupa, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye be yali alekedde Gedaliya okubalabirira, Yisimayeli n'abatwala nga basibe, n'akwata eriraga mu nsi y'Abammoni. Awo Yohanaani mutabani wa Kareya, n'abakulu b'ebitongole ebyali naye, ne bawulira obutemu bwa Yisimayeli. Ne bagenda ne basajja baabwe bonna, okulwanyisa Yisimayeli, ne bamusanga awali ekidiba ekinene e Gibiyoni. Abasibe ba Yisimayeli bwe baalaba Yohanaani n'abakulu b'ebibinja ebyali naye, ne basanyuka, ne bakyuka ne badduka okudda gye bali. Naye Yisimayeli ne basajja be ekinaana, ne basumattuka Yohanaani, ne baddukira mu nsi y'Abammoni. Awo Yohanaani n'abakulu b'ebibinja ebyali naye ne balabirira abantu bonna, abaserikale, n'abakazi, n'abaana abato, n'abalaawe, Yisimayeli be yali atutte nga basibe okubaggya e Mizupa, ng'amaze okutta Gedaliya. Ne babakomyawo okuva e Gibiyoni. Ne bagenda ne babeera e Geruti Kimuhaamu, okumpi ne Betilehemu, nga baagala okulaga mu Misiri, olw'okweraliikirira Abakaludaaya, be baatya, kubanga Yisimayeli mutabani wa Netaniya yali asse Gedaliya, kabaka wa Babilooniya gwe yali awadde okufuga ensi eyo. Awo abakulu b'ebibinja bonna, ne Yohanaani mutabani wa Kareya, ne Yezaniya, mutabani wa Osaaya, n'abantu bonna abakulu n'abato, ne bajja ne bagamba Yeremiya omulanzi nti: “Tukwegayiridde okole kye tukusaba. Tusabire eri Mukama, Katonda waffe, osabire ffe ffenna abasigaddewo, kubanga abaabanga abangi, otulaba tusigadde batono. Osabe Mukama atulage ekkubo lye tugwanira okukwata, era atulage kye tugwanira okukola.” Awo Yeremiya omulanzi n'abaddamu nti: “Mbiwulidde. Kale nja kusaba Mukama, Katonda waffe nga bwe mugambye, era buli ky'anaddamu, nja kukibategeeza. Sijja kubaako kye mbakisa.” Awo ne bagamba nti: “Mukama abe omujulizi omutuufu era ow'amazima, atulumiriza omusango, bwe tutalikola byonna Mukama, Katonda waffe by'anaakutuma okutugamba. Oba kinaatusanyusa, oba tekiitusanyuse, tujja kuwulira Mukama, Katonda waffe, gwe tukusaba okutwegayiririra, tulyoke tubenga bulungi, nga tuwulira by'atulagira.” Bwe waayitawo ennaku kkumi, Mukama n'ayogera ne Yeremiya. Awo n'ayita Yohanaani n'abakulu b'ebibinja bonna abaali naye, n'abantu abalala bonna n'abagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli gwe mwantuma okubasabira, agambye nti: ‘Bwe mukkiriza okubeeranga mu nsi eno, ndibanyweza ne sibayuuyayuuya, kubanga akabi ke nabatuusaako, kannakuwazizza nnyo. Mulekere awo okutya kabaka wa Babilooniya, kubanga Nze ndi wamu nammwe okubawonya n'okubaggya mu mikono gye. Ndibawa mmwe okusaasirwa, abakwatirwe ekisa, abaleke musigale mu nsi yammwe. Nze Mukama, Nze njogedde.’ “Muleme kujeemera Mukama, Katonda wammwe, nga mugaana okusigala mu nsi eno. Singa mugamba nti: ‘Nedda, tujja kugenda mu nsi y'e Misiri tubeerenga eyo, gye tutajja kusanga lutalo, oba okuwulira eŋŋoma ezirawa, era gye tutalifiira njala,’ kale mmwe abasigaddewo mu Buyudaaya, muwulire kino. Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Oba nga mumaliridde okugenda e Misiri, olutalo lwe mutya lulibasanga eyo. N'enjala gye mweraliikirira eribagoberera, era mulifiira eyo mu Misiri. Bonna abamaliridde okugenda e Misiri okubeera eyo, balifiira mu lutalo, oba balifa enjala, oba endwadde. Tewaliba n'omu ku bo aliwonawo. Tewaliba n'omu awona kabi ke ndibatuusaako.’ “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nga bwe nasunguwalira ennyo abantu b'omu Yerusaalemu, bwe ntyo bwe ndibasunguwalira ennyo mmwe, singa mugenda e Misiri. Muliba kyenyinyalwa, abantu balibanyooma, balikozesa erinnya lyammwe nga bakolima, era temuliddayo kulaba kifo kino.’ “Mmwe abasigaddewo mu Buyudaaya, Mukama abagambye obutagenda Misiri. Mumanyire ddala nti olwaleero nze mbalabudde nti musobezza nnyo okuba abakuusa, kubanga mwantuma okubasabira eri Mukama, Katonda waffe, nga mugamba nti: ‘Tusabire eri Mukama, Katonda waffe, era buli ky'anaddamu okitubuulire, ffe tujja kukikola.’ Kaakano mbibategeezezza, naye mujeemedde byonna Mukama Katonda wammwe byantumye okubategeeza. Kale mutegeerere ddala nti mujja kufiira mu lutalo, oba okufa enjala, oba endwadde mu nsi gye mwagala okugenda okubeeramu.” Awo ne mmaliriza okutegeeza abantu byonna Mukama Katonda bye yantuma okubategeeza. Awo Azariya mutabani wa Osaaya, ne Yohanaani mutabani wa Kareya, n'abasajja bonna abeekulumbaza, ne baŋŋamba nti: “Olimba! Mukama, Katonda waffe takutumye kutugamba nti: ‘Temugenda Misiri okubeera eyo.’ Baruku mutabani wa Neriya ye akutuwendulidde okutugabula mu mikono gy'Abakaludaaya, balyoke batutte oba batutwale e Babilooniya tube basibe.” Bwe batyo Yohanaani n'abakulu b'ebibinja bonna, n'abantu abalala bonna, ne batawulira Mukama ky'abalagidde, okusigala mu nsi Buyudaaya. Awo Yohanaani n'abakulu b'ebibinja bonna, ne batwala e Misiri abantu bonna abaali balekeddwa mu Buyudaaya, wamu n'abo abaali bakomyewo okuva mu mawanga gye baali basaasaanidde, abasajja, n'abakazi, n'abaana abato, ne bawala ba kabaka. Ne batwala bonna, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye be yali alekedde Gedaliya okubalabirira, omwali Baruku, nange. Ne bajeemera ekya Mukama kye yabalagira, ne bayingira mu nsi y'e Misiri, okutuukira ddala ne mu kibuga Tapaneesi. Awo Mukama n'aŋŋambira e Tapaneesi nti: “Ddira amayinja amanene ogaziike mu matoffaali agali awayingirirwa mu lubiri lwa kabaka, wano e Tapaneesi, ng'abamu ku Bayudaaya bakulaba, obagambe nti Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nja kutumya omuweereza wange Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya, ajje ateeke entebe ye ey'obwakabaka ku mayinja gano ge nziise, era atimbe eweema ye eya kabaka ku go. Nebukadunezzari oyo alijja n'awangula Misiri. Ab'okufa endwadde bafe, ab'okutwalibwa mu busibe batwalibwe mu busibe, n'ab'okufiira mu lutalo bafiire mu lutalo. “Ndikuma omuliro mu masabo ga balubaale b'e Misiri, era kabaka wa Babilooniya, balubaale alibookya, oba alibasibako n'abatwala. Ng'omusumba bw'ayonja olugoye lwe ng'alondalondamu ensekere n'azimalamu, ne kabaka wa Babilooniya bw'atyo bw'alireka alonzelonze buli kantu mu Misiri, n'agitukuza, n'alyoka agenda, nga tewali amukuba ku mukono. Alimenya empagi ez'e Heliyopoli mu nsi y'e Misiri, era alyokya omuliro amasabo ga balubaale b'e Misiri.” Mukama n'ayogera nange ebikwata ku Bayudaaya bonna abaali mu nsi y'e Misiri mu bibuga Migidooli ne Tapaneesi ne Menfiisi, mu kitundu ky'e Paturoosi. Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli n'agamba nti: “Mulabye akabi ke natuusa ku Yerusaalemu ne ku bibuga ebirala byonna ebya Buyudaaya. N'okutuusa kaakano byasigala matongo, tewali muntu abibeeramu, kubanga abantu baamu baakola ebibi, ne bansunguwaza nga bootereza balubaale obubaane, era nga baweereza balubaale abo, bo bennyini be batamanyangako, newaakubadde mmwe, wadde bajjajjammwe. Nabatumiranga abaweereza bange abalanzi obutasalako, okubategeeza nti ‘Temukola kintu ekyo ekyenyinyalwa kye nkyawa.’ Naye ne batawuliriza, era ne batassaayo mwoyo kulekayo bibi byabwe. Kyennava nkwatibwa obusungu n'ekiruyi, ne mbiyiwa ku bibuga bya Buyudaaya ne mu nguudo z'Ekibuga Yerusaalemu, ne bikoleera omuliro, ne bifuuka matongo, ne birekebwa awo nga bwe biri kaakano. “Kale Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, kaakano mbabuuza mmwe nti: ‘Lwaki mwesombera akabi akenkanidde awo obunene? Lwaki mwagala okuzikiriza abasajja, n'abakazi, n'abaana abato, n'abawere, waleme kusigalawo n'omu ku b'olulyo lwammwe? Lwaki munsunguwaza olw'ebyo bye mukola, nga musinza balubaale mu nsi y'e Misiri gye mwajja okubeeramu? Lwaki mukola bwe mutyo, okwezikiriza, n'okunyoomebwa, era n'okuvumibwa ab'omu mawanga gonna ku nsi? Mwerabidde ebibi byonna bajjajjammwe ne bassekabaka ba Buyudaaya ne bakazi baabwe, ne bakazi bammwe bye baakolera mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu? Naye n'okutuusa kaakano temunnaggwaamu kwekulumbaza. Temunnanzisaamu kitiibwa, wadde okukolera ku mateeka gange, ge nabawa mmwe ne bajjajjammwe.’ “Kale nno Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nja kubatunuuliza bukambwe, nzikirize Buyudaaya yonna. Era abantu ba Buyudaaya abasigaddewo ne bamalirira okugenda okubeera mu nsi y'e Misiri, nja kubasaanyaawo. Bonna abakulu n'abato, balifiira mu nsi y'e Misiri, nga battirwa mu lutalo oba nga bafa enjala. Baliba ekyenyinyalwa, era ekinyoomebwa. Abantu banaabavumanga, era banaabayitanga ekikolimo. Ndibonereza abo ababeera mu nsi y'e Misiri, nga bwe nabonereza Yerusaalemu, nga nkozesa olutalo, n'enjala, n'endwadde. Ku bantu b'omu Buyudaaya abasigaddewo, ne bagenda okubeera mu nsi y'e Misiri, tekuliba awonawo wadde asigalawo. Tekuliba alikomawo mu Buyudaaya gye beegomba okudda okubeera. Tewaliba akomawo okuggyako abatono abalidduka.” Awo abasajja bonna abaamanya nga bakazi baabwe bootereza balubaale obubaane, n'abakazi bonna abaali bayimiridde awo, n'ekibiina ekinene eky'Abayisirayeli abaali babeera mu nsi y'e Misiri e Paturoosi, ne baŋŋamba nti: “Tetwagala kuwuliriza bigambo ebyo by'otubuulidde mu linnya lya Mukama. Naye tujja kwongera okukola ebyo bye tweyama okukola. Tujja kwoterezanga obubaane lubaale nnaabakyala w'eggulu, era tunaamufukiranga ebiweebwayo ebyokunywa, nga ffe ne bajjajjaffe ne bassekabaka baffe, n'abakungu baffe, bwe twakolanga mu bibuga bya Buyudaaya ne mu nguudo za Yerusaalemu, kubanga olwo lwe twabanga n'ebyokulya ebingi, ne tuba bulungi, awatali bitutawaanya. Naye okuva lwe twalekayo okwotereza obubaane lubaale nnaabakyala w'eggulu, n'okumufukira ebiweebwayo ebyokunywa, tetukyalina kantu, era abantu baffe bafiiridde mu lutalo oba bafudde enjala.” Abakazi ne bongerako nti: “Bwe twafumbanga emigaati egiwumbiddwa mu kifaananyi kya lubaale nnaabakyala w'eggulu, ne tumwotereza obubaane, era ne tumufukira ebiweebwayo ebyokunywa, babbaffe baabangawo nga bawagira bye tukola.” Awo abantu bonna abasajja n'abakazi abaali banzizeemu bwe batyo ne mbagamba nti: “Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu mmwe ne bajjajjammwe, ne bassekabaka bammwe, n'abakungu bammwe, n'abantu ab'omu ggwanga, mulowooza nti Mukama teyabumanya, oba nti yabwerabira? N'okutuusa ku lunaku lwaleero, ensi yammwe yasigala matongo, nga tewali agibeeramu. Efuuse kyenyinyalwa era ekinyoomebwa. Abantu bagivuma era bagiyita kikolimo, kubanga Mukama yali takyayinza kugumiikiriza bibi byammwe n'ebyenyinyalwa bye mwakolanga. Akabi kano ke mulimu, kabaguddeko kubanga mwayotereza balubaale obubaane, ne munyiiza Mukama, nga mugaana okukolera ku mateeka ge, ne ku ebyo byonna bye yabalagira.” Era ne ntegeeza abantu bonna, naddala abakazi, ebyo Mukama by'agamba abantu b'omu Buyudaaya abali mu nsi y'e Misiri. Ne ŋŋamba nti: “Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Mmwe, ne bakazi bammwe, mukoze obweyamo eri nnaabakyala w'eggulu nti munaamwoterezanga obubaane, era munaamufukiranga ebiweebwayo ebyokunywa.’ Kale mukole bye musuubizza. Mutuukirize obweyamo bwammwe. “Kale mwenna Abayisirayeli abali mu nsi y'e Misiri, muwulire kye nneeyamye mu linnya lyange ekkulu. Siriddayo kukkiriza n'omu ku mmwe ab'omu Buyudaaya abali mu nsi y'e Misiri, kulayira linnya lyange ng'agamba nti: ‘Nga Mukama Katonda bw'ali omulamu.’ Ndibatuusaako kabi, sso si birungi. Abasajja bonna Abayisirayeli abali mu nsi y'e Misiri, balifiira mu lutalo, oba balifa endwadde, okutuusa lwe baliggwaawo. Naye abatono ku mmwe baliwona okufa ne bava mu Misiri, ne baddayo mu Buyudaaya. Olwo abaliba basigaddewo, balimanya oba ng'ebigambo ebyange bye bituukiridde, oba ebyabwe. Nze Mukama, nja kubawa akabonero kwe munaakakasiza nga bwe ŋŋenda okubabonereza mu kifo kino, era ng'ebigambo byange, ebirangirira akabi ke ndibatuusaako mmwe, bya kutuukirira. Nja kuwaayo Hofera kabaka wa Misiri mu mikono gy'abalabe be abaagala okumutta, nga bwe nawaayo Zeddeekiya kabaka wa Buyudaaya, mu mikono gya Nebukadunezzari, kabaka wa Babilooniya, omulabe we era eyali ayagala okumutta.” Mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, Baruku n'awandiika ebigambo nga bwe nabimugamba. Awo ne ŋŋamba Baruku oyo nti Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Baruku, wagamba nti: ‘Zinsanze, kubanga Mukama annyongedde obuyinike ku kubonaabona. Okusinda kwange kunkooyezza, era sifuna kiwummulo n'akatono!’ “Naye Nze Mukama, nzimbulula kye nazimba, era nsimbula kye nasimba. Nja kukola bwe ntyo mu nsi yonna. Naye ggwe onoonya kutalizibwa? Nedda, biveeko. Nja kutuusa akabi ku bantu bonna. Naye ggwe, ndikuwa waakiri okusigaza obulamu bwo, buli gy'oliraga yonna. Nze Mukama, Nze njogedde.” Awo Mukama n'antegeeza ebifa ku mawanga, ng'asookera ku Misiri. Bino bye yayogera ku ggye lya Neko kabaka wa Misiri, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya lye yawangulira e Karukemisi, okumpi n'Omugga Ewufuraate, mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu ye kabaka wa Buyudaaya: “Abaduumizi Abamisiri baleekaana nti: ‘Mukwate engabo zammwe, mutale okulwana. Muteeke amatandiiko ku mbalaasi, mmwe abeebagazi, muzeebagale, mutale nga mwetikkidde enkuufiira ez'ebyuma. Muwagale amafumu gammwe, mwambale ebizibawo eby'ebyuma.’ “Naye Mukama yeebuuza nti: ‘Ate kaakati ndaba ki? Batidde, bazze emabega! Abalwanyi baabwe ab'amaanyi basuuliddwa wansi. Entiisa eri ku njuyi zonna! Badduse nga tebatunula mabega! Abasinga embiro balemeddwa okudduka. Abazira tebasobola kwewonya! Mu bukiikakkono obw'Omugga Ewufuraate, gye beesittadde, bagudde! Ani ayambuka nga Kiyira omugga ogw'amazzi agaalaala? Misiri ye ayambuka nga Kiyira omugga ogw'amazzi agaalaala!’ Misiri yagamba nti: ‘Ndyambuka mbuutikire ensi, ndizibikira ebibuga n'ababibeeramu bonna. Mmwe embalaasi, mulumbe! Mmwe ebigaali, mutomere! Mmwe abaserikale, mutale! Abakwatangabo, ab'e Kuusi n'e Puuti, n'abalasabusaale, b'e Luudi!’ ” Luno lwe lunaku lwa Mukama, Mukama Nnannyinimagye. Ku luno anaawoolera eggwanga, era anaabonereza abalabe be. Ekitala kye kinaabalya kyekkutire. Ku luno Mukama Nnannyinimagye, asalidde ekitambiro kye mu bukiikakkono, ku lubalama lw'Omugga Ewufuraate. Abantu b'e Misiri mugendeeko e Gileyaadi mwefunireyo eddagala. Naye eddagala eringi lye mukozesa libatawaanyiza bwereere, temuli ba kuwona! Amawanga gawulidde bw'oswadde, bonna bawulidde bw'okaaba. Omuserikale yeesittadde ku munne ne bagwa wamu bombi! Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya bwe yajja okulumba Misiri, Mukama n'aŋŋamba nti: “Mulangirire mu bibuga by'e Misiri mu Migidooli, Menfiisi ne Tapaneesi nti: ‘Mwetegeke okwetaasa. Bye mulina byonna bya kuzikirizibwa mu lutalo. Lwaki lubaale wammwe Apiisi agudde? Mukama ye amusudde wansi.’ Abaserikale bammwe beesittadde ne bagwa! Buli omu agamba munne nti: ‘Situka tuddeyo eri ab'ewaffe, tuwone ekitala ky'omulabe!’ Kabaka wa Misiri mumuwe erinnya: ‘Luyoogaano buyoogaano, Eyasubwa omukisa gwe.’ Nze Mukama Nnannyinimagye, ndi Kabaka. Nze Katonda Nnannyinibulamu. Ng'Olusozi Tabori bwe lugulumidde mu nsozi, Ne Karumeeli bwe lwesimbye ku lubalama lw'ennyanja, n'amaanyi g'oyo ajja okulumba bwe galiba. Mmwe abantu b'e Misiri mwesibirire okugenda mu busibe. Menfiisi kirifuuka matongo, eddungu omutabeera bantu. Misiri eri ng'ennyana ennungi ennyo erumiddwa ekivu ekivudde mu bukiikakkono. Abaserikale be abapangise nabo bali ng'ennyana eziri mu kisibo, kubanga tebaayimirirawo kulwana. Baakyuka ne badduka bonna. Olunaku olw'obuyinike lubatuukiridde! Kye kiseera eky'okuzikirizibwa kwabwe. Abamisiri badduka nga bafuuwa oluwa ng'omusota, ng'eggye ly'omulabe lisembera, ne libalumba nga lirina embazzi, ng'abo abatema emiti. Balitema ekibira kya Misiri newaakubadde kikwafu nnyo, kubanga abaserikale be tebabalika, basinga enzige obungi. Abantu b'e Misiri baswadde: bawanguddwa abantu ab'omu bukiikakkono. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Nja kubonereza Ammoni lubaale w'e Tebesi, awamu ne Misiri, ne balubaale ne bakabaka baamu. Nja kubonereza kabaka wa Misiri, ne bonna abamwesiga, mbaweeyo mu mikono gy'abo abaagala okubatta, mu mikono gya Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'eggye lye. Naye oluvannyuma, Misiri eriddamu okubaamu abantu, nga bwe baabeerangamu edda. Nze Mukama, Nze njogedde.” “Naye mmwe abaweereza bange, temutya. Abayisirayeli, temweraliikirira. Ndibawonyeza gye muli ewala, mu nsi gye muli mu busibe. Mulidda mu nsi yammwe, ne mubeera mirembe nga muli bulungi, awatali abatiisa. Ndijja gye muli ne mbawonya. Ndizikiriza amawanga gonna gye nabasaasaanyiza mmwe, naye mmwe siribazikiriza. Ndibabonereza mmwe, naye mpola ne sibazikiririza ddala. Nze Mukama, Nze njogedde.” Nga kabaka wa Misiri tannalumba Gaaza, Mukama n'ayogera nange ku Bafilistiya. N'agamba nti: “Mulabe, amazzi gatumbiira mu bukiikakkono. Galiba ng'omugga ogwanjaala ne gubikka ensi n'ebigiriko byonna, ebibuga n'ababirimu. Abantu balireekaana, abali ku nsi bonna balikuba ebiwoobe. Baliwulira omusinde gw'ebinuulo by'embalaasi, n'okuwuluguma kw'amagaali, n'okwekulula kwa zinnamuziga. Bakitaabwe b'abaana tebalitunula mabega kulabirira baana abo. Balitekena emikono nga giweddemu amaanyi. Ekiseera kisembedde okuzikiriza Filistiya, okumala ku Tiiro ne Sidoni obuyambi obusigaddewo. Nze Mukama ndizikiriza Abafilistiya bonna abasigaddewo ku kizinga Kafutoori. Ab'e Gaaza bamweddeko enviiri! Ab'e Asukelooni basirisiddwa! Abafilistiya abasigaddewo balituusa wa okukungubaga? Muleekaane nti: ‘Kitala kya Mukama, oliwummulako ddi? Ddayo mu kiraato kyo, owummule osirike!’ Naye kinaawummula kitya nga nkiragidde okukola! Nkiragidde okulumba Asukelooni n'olubalama lw'ennyanja.” Bino Mukama Nnannyinimagye bye yayogera ku Mowaabu: “Zibasanze ab'e Nebo, ekibuga kyabwe kizikiriziddwa! Kiriyatayiimu kiwambiddwa, ekigo kyakyo ekigumu kimenyeddwa, abantu baamu ne baswazibwa. Ekitiibwa kya Mowaabu kiweddewo. Abalabe bawambye Hesubooni, gye bateesereza okusaanyaawo eggwanga lya Mowaabu. Ekibuga ky'e Madumeeni kisirisiddwa, amagye gajja kukirumba. Ab'e Horonayimu baleekaana nti: ‘Okunyaga n'okuzikiriza okw'amaanyi!’ “Ensi Mowaabu ezikiridde! Wulira abaana baayo abato bakaaba. Abalinnyalinnya Luhiti, bagenda bakaaba amaziga. Bakuba ebiwoobe olw'obuyinike, nga baserengeta Horonayimu. Bagamba nti: ‘Mudduke muwonye obulamu bwammwe. Mufuumuuke ng'entulege ey'omu ddungu!’ “Mowaabu,edda weesiganga amaanyi go n'obugagga bwo. Naye kaakano naawe oli wa kuwangulwa. Lubaale wo Kemosi alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be. Azikiriza talitaliza kibuga. Ekiwonvu n'olusenyi birizikirizibwa. Nze Mukama, Nze njogedde. “Mowaabu eneetera okuzikirira! Mugisimire entaana! Ebibuga byayo bisigale matongo omutakyali babibeeramu.” Oyo akolimiddwa agayaalirira omulimu gwa Mukama! N'oyo akolimiddwa aziyiza ekitala okuyiwa omusaayi! Mukama agamba nti: “Abamowaabu baabeeranga mirembe bulijjo. Tebatwalibwangako mu busibe. Bali ng'omwenge ogulekeddwa okuteeka, nga teguttululwa kuva mu nsuwa kudda mu ndala, obuwoomi bwagwo ne butayonooneka n'akatono, n'akawoowo kaagwo, ne kasigala nga kalungi. “Kale kaakano, ekiseera kituuse ntume abanattulula Mowaabu ng'omwenge. Balittulula ensuwa ze, zikale era bazaaseeyase. Olwo Abamowaabu balikwatirwa lubaale waabwe Kemosi ensonyi, ng'Abayisirayeli bwe baakwatirwa ensonyi Beteli, gwe baali beesiga. “Abasajja b'e Mowaabu, lwaki mweyita ab'amaanyi era abazira mu kulwana? Ensi Mowaabu ezikiriziddwa n'ebibuga byayo. Abavubuka baayo embulakalevu nabo batirimbuddwa. Nze Kabaka, Nze njogedde, Mukama Nnannyinimagye! Akabi kasemberedde Mowaabu! Okuzikirira kwayo, kuli kumpi okutuuka. “Mukungubagire eggwanga eryo mmwe baliraanwa baalyo! Mmwe mwenna abamanyi ettutumu lyalyo, mugambe nti: ‘Obufuzi bwalyo obw'amaanyi era obwekitiibwa bumenyeddwawo!’ ” “Mmwe ababeera mu Diboni, muve mu kifo ekyekitiibwa, mukke wansi mu nfuufu, kubanga azikiriza Mowaabu atuuse, azikirizza ebigo byammwe! Mmwe ababeera mu Aroweri muyimirire ku mabbali g'ekkubo mulinde mubuuze abayitawo ku misinde nti: ‘Kiki ekiguddewo?’ Banaabaddamu nti: ‘Ensi Mowaabu emenyeddwa, eswadde. Muteme emiranga, mukaabe ku lubalama lw'Omugga Arunoni, nti Mowaabu ezikiriziddwa!’ “Omusango gumaze okusalirwa ebibuga by'omu museetwe: Holoni, Yaaza, ne Mefaati, Diboni, Nebo ne Betudibulatayimu; Kiriyatayiimu, Betugamuli ne Betumyoni; Keriyooti, Buzura, n'ebibuga byonna eby'omu nsi ya Mowaabu ebiri okumpi n'ewala! Amaanyi ga Mowaabu gamenyese, obuyinza bwayo buzikiridde. Nze mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Mutamiize Mowaabu, kubanga enjeemedde. Mowaabu eryekulukuunya mu bisesemye byayo, era nayo erisekererwa. Ggwe Mowaabu lwaki wasekerera Yisirayeli? Yali mu kibinja ky'ababbi? Buli lw'ogitunulako ggwe oginyeenyeza omutwe! “Mmwe Abamowaabu, muve mu bibuga byammwe. Mugende mubeere mu njazi. Mube ng'ejjiba erizimba mu njatika z'amayinja. Mpulidde okwekulumbaza okw'ab'e Mowaabu. Beekulumbaza nnyo, beekuza, ba lwetumbu, ba lunkulu era ba mputtu. Nze Mukama nkimanyi nga bwe beekuza. Beenyumiririza bwereere. Bye bakola temuli nsa. Kyennava nkungubagira buli Mumowaabu, n'abantu b'e Kiruheresi! “Ndikaabira ab'e Sibuma n'okusinga ab'e Yazeri! Ggwe ekibuga ky'e Sibuma, oli ng'omuzabbibu ogw'amatabi agatuuka ku Nnyanja Enfu, era agatuuka n'e Yazeri! Naye omuzikiriza agudde mu bibala byo eby'ekyeya ne mu makungula go! Essanyu n'okujaganya biggyiddwa mu nsi engimu eya Mowaabu. Nkomezza omwenge gw'emizabbibu okukulukutira mu masogolero. Tewakyali asogola mwenge, ng'aleekaana olw'essanyu. “Ab'e Hesubooni ne Eleyaale bakuba ebiwoobe ne biwulirwa okutuuka n'e Yakazi. Biwulirwa n'ab'e Zowari era ne mu Horonayimu, ne mu Egulaati Selisiya. Nja kukomya ab'e Mowaabu okuwaayo ebitambiro ebyokebwa, n'okwotereza obubaane balubaale baabwe. Nze Mukama, Nze njogedde. “Kyenva nkungubagira Mowaabu era n'abantu b'e Kiru Eresi, ng'omuntu afuuwa ku ndere oluyimba olw'ennaku, kubanga buli kintu kye balina kizikiridde! Bonna bamweddeko enviiri, basazeeko n'ebirevu! Beesaze emisale ku mikono, era bambadde ebikutiya. Ku ntikko z'amayumba mu Mowaabu ne mu nguudo zaayo zonna, waliwo kukungubaga, kubanga njasizza Mowaabu ng'ekibya ekitasanyusa! Mowaabu abetenteddwa, abantu baaziirana! Kaakati efuuse matongo, abagyetoolodde beesekera! Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Eggwanga lirirumba Mowaabu, ng'empungu ebuuka ng'eyanjuluzza ebiwaawaatiro byayo, ebibuga n'ebigo ne biwambibwa. Ku lunaku olwo, abaserikale ba Mowaabu balitya ng'omukazi alumwa okuzaala. Mowaabu alizikirizibwa, n'akoma okuba eggwanga, kubanga yanjeemera. Entiisa n'obunnya n'emitego birinze abantu ba Mowaabu. Nze Mukama, Nze njogedde. “Buli agezaako okudduka entiisa, aligwa mu bunnya, n'oyo ava mu bunnya, alikwatibwa mu mutego, kubanga ntaddewo ekiseera eky'okuzikiririzaamu Mowaabu. Abadduka beewogomako mu Hesubooni, nga baweddemu amaanyi, kubanga Mowaabu kyaka omuliro, n'olubiri lwa Sihoni lwaka omuliro. Omuliro gwokezza ensalo n'entikko z'ensozi ez'abantu ba Mowaabu, abaagazi b'entalo. Zikusanze ggwe Mowaabu! Abantu abasinza Kemosi bazikiridde, batabani baabwe ne bawala baabwe, batwaliddwa nga basibe! “Naye gye bujja, ndizzaawo ebirungi bya Mowaabu.” Ebyo bye byogerwa ku Mowaabu. Bino Mukama bye yayogera ku Bammoni: “Tewali basajja mu Yisirayeli? Tewali bayinza kutaasa nsi yaabwe? Kale lwaki baleka abantu abasinza Milukomu okwefuga ekitundu ky'ab'Ekika kya Gaadi, ne bakisengamu? Naye ekiseera kijja kutuuka, lwe ndiwuliza eŋŋoma z'olutalo nga zirayira mu Rabba, ekibuga ky'Abammoni ekikulu. Era kirirekebwa matongo, n'abantu baamu balyokebwa omuliro. Olwo Yisirayeli alyeddiza ekitundu kye ekyamunyagibwako. Ab'e Hesubooni, mukube ebiwoobe, kubanga Ayi kinyagiddwa. Abakazi b'e Rabba, mwambale ebikutiya mukungubage. Mudduke nga mubuna emiwabo mu bisaakaate. Lubaale wammwe Milukomu anaatwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona be, n'abakungu be. Bantu mmwe abatali beesigwa, lwaki mwenyumiriza? Amaanyi gabawedde! Mwesigira ki obugagga bwammwe, nga mugamba nti: ‘Ani anaatulumba?’ Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nja kubaleetera entiisa okuva mu bonna ababeetoolodde. Mwenna mulidduka ne wataba akumaakuma magye gammwe. “Naye oluvannyuma ndizzaawo ebirungi by'Abammoni. Nze Mukama, Nze njogedde.” Bino Mukama, Nnannyinimagye bye yayogera ku Edomu: “Mu bantu b'e Temani temukyali bagezi? Abajagujagu tebakyamanyi kuteesa? Amagezi gaabwe gagenze? Mmwe ab'e Dedani, mukyuke mudduke! Mwekweke! Ŋŋenda okuzikiriza bazzukulu ba Esawu, kubanga ekiseera kituuse, mbabonereze. Abanoga emizabbibu balekako egimu, n'ababbi bwe bajja ekiro, batwalako ebyo bye baagala. Naye Nze nnyambulidde ddala bazzukulu ba Esawu ne mbaleka bwereere, ne mbikkula ebifo bye beekwekamu, nga tebakyayinza kwekweka. Abantu ba Edomu bazikiriziddwa bonna, tewasigaddeewo n'omu. Muleke bamulekwa bammwe, Nze nja kubalabirira. Ne bannamwandu bammwe banneesige. “Oba nga n'abatasaanidde kubonerezebwa, nabo babonerezebwa, ne mulowooza nti temulibonerezebwa? Temugenda kutalizibwa, naye mulibonerezebwa. Nneerayiridde nzennyini nti ekibuga Bozura kirifuuka ekyennyamiza, matongo, kivumo, era kikolimo. N'ebyalo ebiriraanyeewo biriba matongo ga lubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde.” Ne ŋŋamba nti: “Edomu, mpulidde obubaka obuva eri Mukama. Atumye omubaka okutegeeza amawanga gakuŋŋaanye amagye gaago okukulwanyisa. Mukama agenda kukufuula mutono mu mawanga, onyoomebwenga mu bantu. Okwekulumbaza kwo kukulimbye. Tewali akutya nga ggwe bw'olowooza. Obeera mu njatika ez'omu lwazi, waggulu ku ntikko z'ensozi. Naye ne bw'onoobeera waggulu ng'empungu, Mukama alikuwanulayo.” Mukama agamba nti: “Akabi akalituuka ku Edomu, kaliba ka ntiisa, buli anaayitangawo okumpi, aneewuunyanga n'awuniikirira. Nga Sodoma ne Gomora n'ebibuga ebiriraanyeewo bwe byazikirizibwa, n'ensi Edomu bw'erizikirizibwa n'eteddayo kubeerangamu bantu. Nze Mukama, Nze njogedde. “Ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu eby'oku Mugga Yorudaani, n'erumba amalundiro amalungi, nange bwe ndijja ne ngoba Abeedomu mu nsi yaabwe amangwago. Olwo omukulembeze gwe ndironda ye alifuga mu Edomu. Ani ayinza okwegeza ku Nze? Ani ayinza okunvuganya? Mufuzi ki ayinza okumpakanya? Kale muwulire kye nteesezza okukola ku bantu ba Edomu, ne kye mmaliridde okukola ku bantu b'omu Kibuga Temani. N'abaana baabwe abato balikululibwa, buli omu ne yeesisiwala. Edomu bw'aligwa, walibaawo okwedomola okulikankanya ensi, n'eddoboozi ly'okukaaba kwabwe liriwulirwa ku Nnyanja Emmyufu. Omulabe alirumba Bozura ng'empungu ekka ng'eyanjuluzza ebiwaawaatiro. Ku lunaku olwo abaserikale ba Edomu balitya ng'omukazi alumwa okuzaala.” Bino Mukama bye yayogera ku Damasiko: “Ab'omu bibuga Amati ne Arapaadi beeraliikiridde, era basobeddwa, kubanga bafunye amawulire agatiisa. Okweraliikirira kubasiikudde emitima, ng'amayengo bwe gasiikuula ennyanja. Tebayinza kutereera. Abantu b'e Damasiko baweddemu amaanyi, era badduse nga batidde. Bali mu bulumi ne mu buyinike, ng'omukazi alumwa okuzaala. Ekibuga ekimanyifu era ekyabeerangamu essanyu, kirekeddwa awo ttayo. Ku lunaku olwo abavubuka baakyo balittirwa mu nguudo zaakyo, n'abaserikale baakyo bonna balizikirizibwa. Bwe ntyo bwe ŋŋamba Nze Mukama Nnannyinimagye. Nditeekera omuliro ku bisenge bya Damasiko, ne gwokya amayumba ga Kabaka Benadaadi. Nze Mukama, Nze njogedde.” Bino Mukama bye yayogera ku Kika kya Kedari ne ku bitundu ebifugibwa Azori, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya bye yawangula: “Mulumbe abantu b'e Kedari, muzikirize ekika ky'abantu b'ebuvanjuba. Munyage eweema zaabwe n'embuzi zaabwe, mutwale entimbe zaabwe, n'ebintu ebirala mu weema zaabwe. Mutwale eŋŋamiya zaabwe, mugambe abantu nti: ‘Entiisa ebali ku njuyi zonna!’ “Abantu be Azori, Nze Mukama mbalabula nti mudduke, mugende mwekweke wala, kubanga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya abeekobedde okubakola akabi, era agamba nti: ‘Mujje tulumbe abantu abo abawulira nga bali mirembe. Ekibuga kyabwe tekiriiko nzigi, wadde ebisiba, era tekikuumibwa.’ “Munyage eŋŋamiya n'ensolo zaabwe endala zonna. Nja kusaasaanyiza mu njuyi zonna abantu abo abasala ku nviiri zaabwe ne baziyimpawaza. Era ndibatusaako akabi nga kava mu njuyi zonna. Azori kirifuuka ddungu lya lubeerera, ekifo omubeera ebibe. Abantu tebaliddayo kusengamu. Temuubeerenga muntu n'omu. Nze Mukama, Nze njogedde.” Zeddeekiya nga kyajje afuuke kabaka wa Buyudaaya, Mukama, n'ayogera nange ebifa ku nsi ya Elamu, n'agamba nti: “Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nditta abalasi b'obusaale bonna, abafudde Elamu ey'amaanyi. Ndikunsiza Elamu embuyaga eva ku njuyi zonna, ndisaasaanya abantu baayo, ne watabeera ggwanga na limu lye bataddukiddeemu. Ndireetera ab'e Elamu okutya abalabe baabwe abaagala okubatta. Ndibatuusaako akabi mu busungu bwange obungi, era ndisindika amagye gye bali, okutuusa lwe ndibasaanyaawo. Ndizikiriza bakabaka baabwe, ne nteekayo entebe yange ey'obwakabaka. Naye oluvannyuma, ndizzaawo ebirungi bya Elamu. Nze Mukama, Nze njogedde.” Buno bwe bubaka Mukama bwe yampa nga bufa ku kibuga Babilooni: ne ku bantu baamu: “Mubunyise amawulire mu mawanga, mugalangirire. Mutimbe ebipande, musaasaanye amawulire, temugakisa, mugambe nti: ‘Babilooni kiwambiddwa, lubaale waakyo Baali aswadde, ne Merodaki atokomose! Ebifaananyi byakyo n'ebirala byonna ebisinzibwa bizikiriziddwa!’ Mu bukiikakkono evuddeyo eggwanga okulumba ensi Babilooniya. Lijja kugifuula matongo, eddukibwemu abantu n'ensolo, wabulewo n'omu agibeeramu.” Mukama agamba nti: “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya balijja nga bakaaba amaziga, nga banoonya Nze Katonda waabwe. Balibuuza awali ekkubo erigenda e Siyooni, ne boolekera eyo, nga bagamba nti: ‘Mujje twegatte ne Mukama, tukole naye endagaano ey'olubeerera etalyerabirwa.’ “Abantu bange bali ng'endiga, abasumba baazo ze baawabya, ne bazibuliza mu nsozi. Babungeeta okuva ku lusozi okudda ku lulala, ne beerabira n'ewaabwe. Balumbibwa bonna ababasanga. Abalabe baabwe bagamba nti: ‘Kye tukoze si kibi, kubanga baasobya mu maaso ga Mukama, bajjajjaabwe gwe beesiganga, era nabo bennyini gwe bandinywereddengako.’ “Mmwe Abayisirayeli, mudduke muve mu Babilooni. Mufulume ensi y'Abakaludaaya. Mube ababereberye mu kugivaamu, kubanga nja kusiikuula nsitule ekibinja ky'amawanga ag'amaanyi mu bukiikakkono, bajje balumbe Babilooniya. Balitala okulwanyisa ensi eyo bagiwangule. Bamanyirivu mu kulasa obusaale, era mu kuteeba tebasubwa. Ensi y'Abakaludaaya erinyagibwa. Era abo abaginyaga, balitwala buli kye baagala. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Mmwe abaanyaga eggwanga lyange, musanyuse ne mujaganya, ne muligita ng'ennyana y'ente ewuula eŋŋaano, ne mufugula ng'embalaasi ez'amaanyi. Naye ekibuga kyammwe ekikulu kiritoowazibwa. Eggwanga lyammwe lye lirisembayo mu mawanga gonna. Lirifuuka olukoola, ensi enkalu ey'eddungu. Olw'obusungu bwange, ensi yammwe teebeerengamu muntu n'omu. Erirekebwa awo matongo, era bonna abanaayitanga mu Babilooni, banaasamaaliriranga ne beewuunya okubonaabona kwakyo. “Mmwe mwenna abalasi b'obusaale, mutale okulwanyisa Babilooni, mukizikirize. Mukirase obusaale bwammwe bwonna, kubanga kyakola ekibi mu maaso ga Mukama. Mukireekaanireko ku buli ludda. Kaakano kijeemulukuse. Ebigo byakyo biyiise, n'ebisenge byakyo bimenyeddwa, kubanga mpoolera eggwanga ku Bakaludaaya. Muwoolere eggwanga ku bo. Mubakoleko bye baakolanga ku balala. Mu Babilooni mumaleemu buli asiga ensigo, ne buli akutte ekiwabyo mu budde obw'amakungula. Buli mugwira abeeramu alitya eggye eddumbi, n'addayo ewaabwe.” Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bali ng'endiga ezigobeddwa empologoma ne zibuna emiwabo. Kabaka w'Assiriya ye yasooka okubakavvula, ate ne Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'abaasaayasa amagumba. Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, kyenva ŋŋamba nti: ndibonereza Kabaka Nebukadunezzari n'ensi ye, nga bwe nabonereza kabaka w'Assiriya. Ndikomyawo Abayisirayeli mu nsi yaabwe. Balirya emmere erimwa ku Lusozi Karumeeli, ne mu kitundu ky'e Basani, era balirya ne bakkuta ebirimwa mu bitundu bya Efurayimu ne Gileyaadi. “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, tewaliba kwonoona mu Yisirayeli, era tewaliba bibi mu Buyudaaya, kubanga ndisonyiwa abo be nditalizaawo okuba abalamu. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Mulumbe ab'e Meratayimu n'ab'e Pekodi. Mubawondere mubatte, mubazikirize. Mukole byonna bye mbalagira. Nze Mukama, Nze njogedde. Okuleekaana okw'olutalo kuwulirwa mu nsi eyo, era okuzikirira kunene. Babilooni yali nnyondo eyayasaayasanga ensi yonna, kaakati nayo eyasiddwa. Amawanga gonna geekanze olw'ebyo ebiguddewo mu nsi eyo. Ggwe Babilooni eyannwanyisa, okwatiddwa mu mutego gwe nakutega nga totegedde. Nziguddewo etterekero ly'ebyokulwanyisa byange, era mbifulumizza nga nsunguwadde, kubanga Nze Mukama, Nnannyinimagye, nnina omulimu gwe ŋŋenda okukola mu nsi y'Abakaludaaya. Mugirumbe nga muva buli ludda, mugguleewo amawanika gaayo gonna. Omunyago mugutuume entuumu ng'ez'eŋŋaano. Muzikirize ensi eyo. Temubaako kintu na kimu kye mulekawo. Mutte abaserikale baayo bonna, mubatirimbule. Zibasanze abo! Ekiseera kituuse babonerezebwe.” Abadduse ne bawona e Babilooni, ba kutuuka mu Siyooni balombojje nga Mukama Katonda waffe, bwe yawoolera eggwanga olw'ebyo ebyakolebwa ku Ssinzizo lye. “Mukuŋŋaanye bonna abakugu mu kulasa obusaale, balumbe Babilooni. Bakyetooloole, era tebaleka muntu n'omu kudduka. Mwesasuze byonna bye kyakola, kubanga kyanneekulumbalizaako, Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli. Abavubuka baakyo kyebaliva battirwa mu nguudo zaakyo, n'abaserikale baakyo ne battibwa ku lunaku olwo. Nze Mukama, Nze njogedde. “Ggwe Babilooni, weekulumbaza. Nze Mukama, Nnannyinimagye, kyenva nkulwanyisa. Ekiseera kituuse nkubonereze. Ggwe eyeekulumbaza, olyesittala n'ogwa, ne watabaawo akuyimusa. Ebibuga byo ndibikoleezaako omuliro, guzikirize ebintu byonna ebyetooloddewo.” Mukama, Nnannyinimagye, agamba nti: “Abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya banyigirizibwa. Bonna abaabanyaga babakuuma butiribiri, tebakkiriza kubata kugenda. Naye alibanunula, wa maanyi. Erinnya lye ye Mukama, Nnannyinimagye. Ye yennyini alibalwanirira, n'aleeta emirembe ku nsi, kyokka alyeraliikiriza ab'e Babilooni.” Mukama agamba nti: “Abakaludaaya bafe, n'abatuuze b'e Babilooni, n'abakungu n'abagezi baamu. Abalanzi baakyo ab'obulimba basiruwale, bafe, n'abaserikale battibwe bazikirire! Muzikirize embalaasi zaakyo, n'amagaali gaakyo. Abaserikale baakyo abapangise, batye ng'abakazi, bafe! Mulumbe ebintu byamu ebyobugagga mubinyage. Ekyeya kyake kikalize amazzi gaamu, kubanga abaamu basinza ebitaliimu nsa, era bibalalusizza! Babilooni kyanaavanga abeeramu emmondo, n'empisi, n'ebiwuugulu. Tekiriddamu kubeeramu bantu mu biseera byonna ebijja. Ndizikiriza Babilooni nga bwe nazikiriza Sodoma ne Gomora n'ebibuga ebiriraanyeewo. Tekiriddayo kubeerangamu muntu n'omu. Nze Mukama, Nze njogedde. “Abantu baliva mu ggwanga ery'amaanyi ery'omu bukiikakkono, ne bakabaka bangi baliva mu nsi ez'ewala, nga bakutte emitego gy'obusaale era n'amafumu. Bakambwe, tebaliiko kisa. Omusinde gwabwe guwuuma ng'ennyanja. Bajja beebagadde embalaasi, nga beetegekedde okulwanyisa Babilooni. “Kabaka wa Babilooni amawulire gamutuuse, emikono gye ne giragaya! Obubalagaze n'obulumi bimukutte ng'omukazi alumwa okuzaala. Ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu eby'oku Mugga Yorudaani, n'erumba amalundiro amalungi, nange, Nze Mukama, bwe ndijja ne ngoba amangwago Abakaludaaya mu kibuga kyabwe. Omufuzi gwe ndironda, ye alifuga eggwanga. Ani ayinza okunneegeranyaako? Oba ani aguma okunnwanyisa? Kale muwulire kye nteesezza okukola ku Babilooni, ne ku bantu baakyo n'abaana baabwe abato: nabo balirumwa, buli omu ne yeesisiwala. Babilooni bwe kirigwa, ensi yonna erikankana olw'okwedomola kwakyo! N'emiranga gye balikitemera giriwulirwa wonna.” Mukama agamba nti: “Ndisindika e Babilooni, ne mu Bakaludaaya embuyaga ezikiriza. Ndisindika bannamawanga e Babilooni ne bakizikiriza, nga kibuyaga akuŋŋunsa ebisusunku. Olunaku olwo olw'akabi bwe lulituuka, balirumba okuva ku buli ludda, eggwanga ne balimalamu ebintu byonna. Temuganya baserikale baalyo kulasa busaale bwabwe, wadde okwambala ebizibawo byabwe eby'ekyuma. Temutaliza bavubuka baalyo. Musaanyeewo eggye lyalyo lyonna. Balifumitibwa ebiwundu ne bafiira mu nguudo z'ebibuga byabwe, kubanga Nze Mukama, Katonda, Nnannyinimagye, ssaabulidde bantu ba Yisirayeli na ba Buyudaaya, newaakubadde nga bazza omusango gye ndi, Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli. “Mudduke muve mu Babilooni, buli omu awonye obulamu bwe, muleme okuzikirizibwa olw'ekibi kya Babilooni, kubanga kye kiseera mpoolere eggwanga, era mbonereze ekibuga ekyo nga bwe kisaanira. Babilooni kyali ng'ekikopo ekya zaabu mu ngalo zange, ekyatamiizanga ensi yonna. Amawanga gaanywa ku mwenge gwakyo ne galaluka. Babilooni kigudde mangwago, era kizikiridde. Mukikungubagire. Mukifunire eddagala olw'obulumi bwakyo, oboolyawo kinaawona. Abagwira abakibeeramu baagamba nti: ‘Twandiwonyezza Babilooni, naye tekiwonye. Tukiveemu, buli omu addeyo mu nsi y'ewaabwe, kubanga Katonda abonerezza nnyo Babilooni, era akisaanyizzaawo.’ ” Mukama agamba nti: “Abantu bange baleekaana nti: ‘Mukama alaze nga ffe batuufu. Tugende tutegeeze ab'omu Yerusaalemu, Mukama Katonda waffe by'akoze.’ ” Mukama akumye omuliro mu bakabaka b'e Mediya, kubanga ayagala okuzikiriza Babilooni. Bw'atyo Mukama bw'anaawoolera eggwanga olw'okuzikirizibwa kw'Essinzizo lye. Abaduumizi b'eggye eddunuzi balagira nti: “Muwagale obusaale bwammwe! Mukwate engabo zammwe. Muwanike bbendera okulumba ebisenge bya Babilooni. Mutegeke abanaateega!” Mukama atuukirizza bye yagamba okukola ku bantu b'omu Babilooni. Ggwe ensi erina emigga emingi, n'ebyobugagga ebingi ennyo, enkomerero yo etuuse, akawuzi k'obulamu bwo kakutuddwa. Mukama Nnannyinimagye alayidde obulamu bwe bwennyini nti alireeta abasajja abangi ng'enzige, okulumba Babilooni, era balikuba olwogoolo nga bawangudde. Mukama ye w'obuyinza eyatonda ensi. Ye w'amagezi n'okutegeera eyanyweza byonna, era eyabamba eggulu. Bw'awa ekiragiro kye, amazzi agali mu bbanga gawuluguma. Akuŋŋaanya ebire okuva mu nsonda zonna ez'ensi. Aleeta okumyansa mu nkuba ng'etonnya. Era aggya embuyaga mu mawanika ge. Abantu bonna basirusiru, tebaliiko kye bamanyi. Abakola ebifaananyi ebisinzibwa bibakwasa ensonyi, kubanga bye bakola temuli nsa, era tebirina bulamu. Tebirina mugaso, bya bulimba bwereere. Ekiseera kyabyo eky'okubonerezebwa bwe kirituuka, birizikirizibwa. Katonda wa Yakobo tafaanana ng'ebyo, kubanga ye, ye yakola buli kintu. Era yalonda Abayisirayeli okuba abantu be. Mukama, Nnannyinimagye, lye linnya lye. Mukama agamba nti: “Babilooni, ggwe nnyondo yange, ggwe byokulwanyisa byange. Nakukozesa okubetenta amawanga n'obwakabaka, okumenyaamenya embalaasi n'abeebagazi baazo, okumenyaamenya amagaali n'abagatambuliramu. Nakozesa ggwe okutta abasajja n'abakazi, n'abakadde n'abavubuka, era n'abalenzi n'abawala. Nakozesa ggwe okusaanyaawo abasumba n'amagana gaabwe, okutta abalimi n'emigogo gyabwe egy'ente, n'okubetenta abafuzi n'abaduumizi b'eggye.” Mukama agamba nti: “Muliraba bwe nsasula Babilooni n'Abakaludaaya bonna, olw'ebibi byonna bye baakola mu Siyooni. Ggwe Babilooni, oli ng'olusozi oluzikiriza ensi yonna. Naye Nze Mukama ndikulwanyisa. Ndikukwatako engalo, ne nkumulungula, ne nkufuula vvu. Tebalikuggyako jjinja kulizimbisa. Onoobanga matongo ga lubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde. “Muwanike bbendera mu nsi, mufuuwe eŋŋombe mu mawanga, mutegeke amawanga okulwanyisa Babilooni. Muyite obwakabaka bw'e Ararati, obw'e Minni, n'obw'e Asukenaazi okukirumba. Mulonde omugabe anaaduumira. Muleete embalaasi ennyingi ng'ebibinja by'enzige. Mutegeke amawanga okulwanyisa Babilooni. Mutumye bakabaka b'Abameedi, wamu n'abakulembeze n'abakungu ababaddirira, n'amagye g'ensi zonna ze bafuga. Ensi ekankana n'ejjula obulumi, kubanga Mukama ajja kutuukiriza kye yamalirira, okufuula Babilooni amatongo omutabeera muntu n'omu. Abaserikale ba Babilooni baleseeyo okulwana, basigadde mu bigo byabwe ebigumu. Amaanyi gabaweddemu, bafuuse ng'abakazi. Enzigi z'ekibuga zimenyeddwa, ennyumba zaakyo zikoleezeddwako omuliro. Ababaka bajjira kumukumu okutegeeza kabaka wa Babilooni ng'ekibuga kye bwe kimenyeddwa enjuyi zonna. Abalabe bawambye entindo, era ebigo ebigumu babikumyeko omuliro. Abaserikale ba Babilooni batidde. Akaseera kasigadde katono omulabe alinnyirire ab'omu Babilooni ng'eŋŋaano mu gguuliro. Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, Nze njogedde.” Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya yasalaasala Yerusaalemu n'akirya. Yakikaliza n'akyasaayasa ng'ensumbi. Yafuuka ng'ogusota, n'akimira. Yatwala buli kye yeerobozaamu, ebyo by'atayagala n'asuula. Ab'omu Siyooni bagambe nti: “Obukambwe obwatukolwako, ka buddire Babilooni!” Ab'omu Yerusaalemu bagambe nti: “Omusaayi gw'abantu baffe ogwayiika, guddire Abakaludaaya.” Mukama kyeyava agamba abantu b'omu Yerusaalemu nti: “Nja kubalwanirira, era ndiwoolera eggwanga ku lwammwe. Ndikaliza ennyanja y'abalabe bammwe, era ndikaliza ensulo zaabwe ez'amazzi. Babilooni kirifuuka ntuumu ya bisasiro, ekifo omubeera ebibe, ekitiisa, era ekyesisiwaza okulaba, era ekitabeeramu muntu n'omu. Abakaludaaya baliwuluguma ng'empologoma enkulu, era balivuuma ng'empologoma ento. Nga bwe balina omululu, ndibafumbira embaga, ne mbatamiiza ne basanyuka. Balyebaka obutaddayo kuzuukuka. Ndibatwala okuttibwa ng'abaana b'endiga, era ng'endiga n'embuzi eza sseddume. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama ayogera ku Babilooni nti: “Ekibuga ekitenderezebwa ensi yonna, kiwambiddwa. Babilooni nga kifuuse matongo mu mawanga! Ennyanja ekuluggukidde ku Babilooni, amayengo gaayo agawuluguma, gakisaanikidde. Ebibuga byakyo bifuuse matongo, eddungu omutali mazzi, eritaliimu alibeeramu, wadde aliyitamu. Ndibonereza Beli, lubaale w'e Babilooni, ne mmuzzisaayo bye yabba. Amawanga galiba tegakyaddamu kumusinza. “Ebisenge bya Babilooni bigudde! Abantu ba Yisirayeli, mudduke muveeyo, mwewonye obusungu bwange. Temuggwaamu maanyi era temutya olw'amawulire ge muwulira mu nsi, kubanga buli mwaka muliwulira amawulire ag'enjawulo, ag'obukambwe mu nsi, n'aga kabaka omu okulwanyisa omulala. Kale ekiseera kirituuka, ne nkola ku kusinza ebitaliimu nsa okuli mu Babilooniya. Ensi eyo yonna erikwatibwa ensonyi, n'abantu baamu balittibwa. Eggulu n'ensi na byonna ebibirimu biriyimba olw'essanyu nga Babilooni kizikiriziddwa abantu abaliva mu bukiikakkono. Babilooni kyatta abantu mu nsi yonna. Kale kaakano Babilooni kya kuzikirizibwa olw'okutta Abayisirayeli abangi. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba abantu be abali mu Babilooniya nti: “Muwonye okuttibwa. Kaakano mugende, temulinda. Newaakubadde nga muli wala n'ewammwe, naye mujjukire Nze, Mukama, era mulowooze ku Yerusaalemu. Mugamba nti: ‘Twavumibwa ne tuswazibwa. Tukwatiddwa ensonyi kubanga bannamawanga baayingira mu bifo ebitukuvu mu Ssinzizo.’ Kale nno, Nze ŋŋamba nti ekiseera kirituuka, ne nkola ku kusinza ebitaliimu nsa okuli mu Babilooni, era mu nsi eyo abaliko ebiwundu, balisinda. Babilooni ne bw'alirinnya okutuuka ku ggulu, ne yeezimbira eyo ebigo ebigumu, era ndisindikayo abantu okukizikiriza. Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Muwulire ebiwoobe mu Babilooni n'emiranga egy'okuzikirira mu nsi y'Abakaludaaya, kubanga nzikiriza Babilooni era nkisirisiza ddala. Amagye gakiyiikamu ng'amayengo agawuluguma, ne gakirumba nga galeekaana. Omulabe azze okuzikiriza Babilooni. Abaserikale baamu bawambiddwa, n'emitego gyabwe egy'obusaale gimenyeddwa, kubanga Nze Mukama, ndi Katonda aweera empeera. Ndisasula Babilooni nga bwe kisaanira. Nditamiiza abakungu baamu, n'abagezi baamu n'abafuzi, n'abaduumizi b'eggye n'abaserikale. Balyebaka otulo otw'olubeerera, era tebalizuukuka. Nze Kabaka, Mukama, Nnannyinimagye Nze njogedde.” Nze Mukama, Nnannyinimagye, ŋŋamba nti: “Ebisenge bya Babilooni ebigumu, birisuulibwa wansi, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro. Abantu bateganira bwereere, n'amawanga bye gakola, bya kwokebwa omuliro.” Omuweereza eyabeeranga ku lusegere lwa Kabaka Zeddeekiya, yali Seraya mutabani wa Neriya era muzzukulu wa Maasaya. Mu mwaka ogwokuna nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Seraya bwe yali ng'agenda e Babilooniya wamu ne Zeddeekiya, ne mbaako bye mmulagira. Ne mpandiika mu kitabo, ebifa ku kabi konna ak'okutuuka ku Babilooniya, era ne bino ebirala byonna ebifa ku Babilooniya. Ne ŋŋamba Seraya nti: “Bw'olituuka mu Babilooni, osomeranga abantu mu lwatu ebigambo bino byonna, n'olyoka ogamba nti: ‘Ayi Mukama, wagamba nti olizikiriza ekifo kino, ne kitasigalamu kiramu na kimu, k'abe omuntu wadde ensolo, naye kibe matongo ennaku zonna.’ Bw'olimala okusoma ekitabo kino, n'olyoka okisibako ejjinja, n'okisuula mu Mugga Ewufuraate wakati. N'oyogera nti: ‘Babilooni bwe kirikka bwe kityo, era tekiriddayo kubbulukuka, olw'okuzikirira Mukama kw'alikituusaako.’ ” Ebigambo bya Yeremiya wano we bikoma. Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Amutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. Zeddeekiya yakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yehoyakiimu bye yali akoze. Mukama n'asunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemu, n'ab'omu Buyudaaya, era n'abagoba mu maaso ge. Zeddeekiya n'ajeemera Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya. N'olwekyo ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'ekkumi, mu mwaka ogw'omwenda nga Zeddeekiya ye kabaka, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'ajja n'eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemu. N'asiisira ebweru waakyo, n'akizimbako ebigo okukyetooloola, n'akizingiza okutuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obwa kabaka bwa Zeddeekiya. Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna, mu mwaka ogwo, enjala n'eba nnyingi nnyo mu kibuga, ng'abantu tebakyalina ke balya. Ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga. Newaakubadde ng'Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga, abaserikale bonna ne badduka ne bafuluma ekibuga ekiro, nga bayita mu kkubo ery'omu nnimiro ya kabaka, ne bafulumira mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, ne boolekera Ekiwonvu kya Yorudaani. Naye eggye ly'Abakaludaaya ne liwondera Kabaka Zeddeekiya, ne limukwatira mu nsenyi ez'e Yeriko, eggye lye lyonna ne limwabulira, ne lisaasaana. Awo ne bakwata Zeddeekiya, ne bamutwala eri Kabaka Nebukadunezzari e Ribula mu kitundu ky'e Hamati, n'amusalira omusango. Nebukadunezzari n'atta batabani ba Zeddeekiya, nga Zeddeekiya yennyini alaba, era n'attira awo e Ribula abakungu ba Buyudaaya bonna. N'atungulamu Zeddeekiya amaaso, n'amusiba mu njegere, n'amutwala e Babilooni. Zeddeekiya n'asigala mu kkomera okutuusiza ddala ku lunaku lwe yafiirako. Ku lunaku olw'ekkumi, olw'omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw'omwenda nga Nebukadunezzari ye kabaka wa Babilooniya, Nebuzaradaani omukungu we, era omuduumizi w'eggye lye, n'ayingira mu Yerusaalemu. N'ayokya Essinzizo, n'olubiri lwa kabaka, n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemu. Buli nnyumba ennene yagyokya omuliro. Eggye lyonna eryali naye, ne limenya ekisenge kyonna, ekyetoolodde Yerusaalemu. Awo Nebuzaradaani n'atwala e Babilooni abamu ku bantu abaavu, abali basigadde mu kibuga, n'abo abaali bamaze okwewaayo mu Bakaludaaya. Abamu ku baavu ennyo, abataalina kantu, n'abaleka mu Buyudaaya, okulabiriranga emizabbibu, n'okulimanga. Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez'ekikomo, ezaali mu Ssinzizo, n'ebikondo, era n'ettanka y'amazzi ennene, ebyalimu, ne batwala e Babilooni, ekikomo kyabyo kyonna. Ne batwala n'entamu, n'ebitiiyo ebiyoola evvu, n'ebijiiko, n'ebibya omwanyookerezebwanga obubaane, n'ebintu ebirala byonna eby'ekikomo, ebyakozesebwanga okuweereza mu Ssinzizo. Ne batwala n'ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza, ebibya ebitono, n'ensaniya okuyoolerwa amanda, ebbenseni n'entamu, n'ebikondo by'ettaala, n'ebibya by'obubaane, n'ebikopo. Ebintu eby'ekikomo, Kabaka Solomooni bye yakolera Essinzizo: empagi ebbiri, entebe, tanka y'amazzi ennene, n'ente ennume ekkumi n'ebbiri ezigiwanirira, byali bizito nnyo okupima. Era mu mbiriizi za buli mpagi, kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga. Amakomamawanga gonna gaali kikumi agatimbye buli mpagi okugyetoolooza. Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye, era yatwala ne Seraya Ssaabakabona, ne Zefaniya, kabona addirira mu bukulu, n'abaggazi abakulu abasatu. N'aggya mu kibuga omukungu eyali aduumira abaserikale, n'abasajja musanvu abaawanga kabaka amagezi, abaali bakyali mu kibuga, n'oyo addirira omuduumizi w'eggye, eyawandiikanga abantu mu ggye, n'abakungu abalala nkaaga. Nebuzaradaani n'abatwala eri kabaka wa Babilooni eyali e Ribula, mu kitundu ky'e Hamati. Kabaka wa Babilooniya n'abakuba n'abattira eyo. Bwe batyo abantu b'omu Buyudaaya ne baggyibwa mu nsi yaabwe, ne batwalibwa mu busibe. Bano be bantu Nebukadunezzari be yatwala mu busibe: mu mwaka gwe ogw'omusanvu nga ye kabaka, yatwala Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu. Mu mwaka gwe ogw'ekkumi n'omunaana yatwala abasibe lunaana mu amakumi asatu mu babiri, ng'abaggya mu Yerusaalemu. Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu ogw'obufuzi bwa Nebukadunezzari, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye yatwala abasibe lusanvu mu amakumi ana mu bataano. Abantu bonna abaatwalibwa baawera enkumi nnya mu lukaaga. Mu mwaka ogwo Evilumerodaaki gwe yafuukiramu kabaka, n'akwatirwa ekisa Kabaka Yehoyakiini owa Buyudaaya, n'amuggya mu kkomera. Lwali lunaku olw'amakumi abiri mu ettaano olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, nga Yehoyakiini atwaliddwa mu buwaŋŋanguse. Evilumerodaaki n'alaga Yehoyakiini ekisa, era n'amuwa ekifo ekyekitiibwa okusinga ekya bakabaka abalala, abaali naye e Babilooni mu busibe. Bw'atyo Yehoyakiini n'akkirizibwa okuggyamu ebyambalo bye eby'obusibe, n'aliiranga ku lujjuliro lwa kabaka ennaku zonna ez'obulamu bwe. Ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu, yaweebwanga omugabo gw'ebintu bye yeetaaga buli lunaku. Ekibuga ekyali kikubyeko abantu, nga kirekeddwawo awo ttayo! Ekyali Nnaabakyala mu mawanga, kifuuse nga nnamwandu! Ekyali ekimbejja mu bibuga, kati kye kiwa omusolo! Mu kiro, kikaaba amaziga, ne gakibuna amatama! Mu baganzi baakyo ab'edda tewali akikubagiza. Abeetabanga nakyo, bakiriddemu olukwe kaakati balabe baakyo! Ab'omu Buyudaaya batwaliddwa mu busibe. Bafuuliddwa abaddu, tebakyalina waabwe. Beetooloddwa abalabe, awatali buddukiro. Enguudo ezituuka mu Siyooni kaakano zikungubaga: abaziyitamu tewali okwambuka okusinza Katonda. Emiryango gyakyo myereere. Abawala abaakiyimbirangamu, kati bakulukusa maziga. Bakabona bali mu kusinda! Abalabe baakyo bawangudde, kiri mu mikono gyabwe, kubanga Mukama akibonerezza olw'ebibi byakyo ebingi. Abaana baakyo bawambiddwa, ne batwalibwa omulabe. Ekyali ekitiibwa kya Siyooni, kati kifumwa bufumwa. Abakungu baakyo bali ng'ennangaazi ezitakyalina muddo, era eziweddemu amaanyi nga zigobebwa abayizzi. Yerusaalemu ajjuukirira mu nnaku ye ne mu buyinike bwe obungi ekitiibwa kye eky'edda. Bwe yalumbibwa abalabe ne wataba bamudduukirira, abalabe be beesekera, ne bamukudaalira ng'agudde. Yerusaalemu yayonoona nnyo, afuuse atali mulongoofu. Abaamussangamu ekitiibwa, bonna bamunyoomoola nga balaba ali bwereere. Naye yennyini alinda, ne yeebwalabwala ng'aswadde. Obwonoonefu bwe bwalabika, kyokka n'atafaayonako ku kabi akaliddirira. Ekyo ne kimusuula wala, nga takyakubagizika. Abalabe bamuwangudde, olwo kwe kuwanjagako nti: “Zinsanze! Ayi Mukama nnyamba!” Abalabe beenyagidde ebyobugagga bye byonna. Alabye nga bayimiridde mu Ssinzizo lyennyini, Mukama lye yagaanamu bannamawanga. Abantu be bonna basinda nga banoonya ebyokulya. Bawaayo obugagga bwabwe, bafuneyo akamere kwe banaakuumira obulamu. Ekibuga kikaaba nti: “Ayi Mukama, tunulako gye ndi! Laba sikyaliko bwe ndi!” Era ne kigamba nti: “Abange, temufaayo mmwe, abayitawo mwenna? Eriyo alina obulumi obwenkana buno obwange, Mukama bwe yantuusaako, ng'ansunguwalidde? “Yaweereza omuliro okuva waggulu n'agusindika mu magumba gange. Yantega ekitimba n'ankuba wansi, n'anjabulira nga ndi mu bulumi! “Yekkaanya ebibi byange byonna, n'abisiba ng'ekikoligo n'akinsiba mu bulago. Obuzito bwakyo bummazeemu amaanyi. Mukama yampaayo mu balabe, be siyinza kulwanyisa n'akatono. “Mukama asekeredde abaserikale be nnina abasingira ddala amaanyi. Ansindikidde eggye okuzikiriza abavubuka bange. Asambiridde abantu bange, ng'emizabbibu mu ssogolero. “Kyenva nkaaba olw'ebyo ne nkulukusa amaziga. Tewali ayinza kunkubagiza, wadde anzizaamu amaanyi. Abalabe bampangudde, abantu bange basigalidde awo. “Nkanda kuwanika mikono, naye tewali ampa buyambi. Mukama alagidde baliraanwa bange bafuuke abalabe bange. Bambalira mu batali balongoofu. “Naye Mukama mwenkanya, kubanga nze najeemera ebiragiro bye. Muwulire mmwe amawanga gonna, mutunuulire obuyinike bwange. Batabani bange ne bawala bange batwaliddwa nga basibe. “Nayita mikwano gyange naye ne batannyamba. Bakabona n'abakulembeze bange baafiira mu nguudo z'ekibuga, nga bagenda beenoonyeza akamere kwe banaakuumira obulamu. “Laba, ayi Mukama, obuyinike bwange, era nneeraliikirira nnyo. Omutima gwange gumenyese, nga nneenenya olw'ebibi byange. Obutemu bwe buli mu nguudo, n'okufa kwe kuli mu nnyumba. “Bawulidde bwe nsinda ne wataba ankubagiza. Abalabe bange basanyuse olw'akabi k'ontuusizzaako. Tuusa olunaku lwe walangirira, nabo baboneebone nga nze. “Basingise omusango olw'ebibi byabwe, obabonereze nga bw'obonerezza nze olw'ebibi byange. Nsinda olw'obuyinike, omutima gunnyongobedde.” Mukama mu busungu bwe abisse ekire ku Siyooni. Obulungi bwa Yisirayeli obwawaggulu Mukama abusudde wansi. Ku lunaku olw'obusungu bwe, tafudde wadde ku Ssinzizo lye. Mukama azikirizza awatali kisa ebyalo by'omu Buyudaaya byonna. Mu busungu bwe obungi, amenyeewo ebigo ebigumu ebikuuma ab'omu Buyudaaya. Aswazizza obwakabaka obwo n'abakungu baamu. Amazeewo amaanyi ga Yisirayeli, ng'aliko ekiruyi. Yagaana okutukwatirako nga tuzindiddwa abalabe. Yatusunguwalira ng'omuliro ogwaka ennyo ne gwokya buli kimu. Yatuleegamu obusaale bwe ng'omulabe. Bonna abaatusanyusanga yabatta. Wano mu Yerusaalemu tuwulidde obukambwe bw'obusungu bwe! Mukama yeefudde ng'omulabe n'azikiriza Yisirayeli. Embiri n'ebigo ebigumu ebyo alese nga matongo. Atuusizza ku b'omu Buyudaaya obulumi obutalojjeka! Amenyeewo Essinzizo mwe twamusinzizanga. Akomezza ennaku enkulu ne Sabbaato, asunguwalidde kabaka ne bakabona. Mukama yesammudde alutaari ye era atamiddwa ekifo kye ekitukuvu. Abalabe abakkirizza okumenya ebisenge by'ennyumba zaamu. Bawangudde ne baleekaanira mwe twasinzizanga nga tusanyuka. Mukama yamalirira okuzikiriza ebisenge bya Siyooni. Yapima nga bwe binaamenyebwa, n'atayimiriza ba kubizikiriza. Eminaala n'ebisenge bigudde wamu mu matongo. Emiryango gyakyo gibulidde mu ttaka. Ebisiba byagyo bimenyeddwa. Kabaka waakyo n'abakungu be bali mu busibe. Amateeka tegakyayigirizibwa. Abalanzi baakyo Mukama takyaliko ky'abalaga. Abantu abakulu mu Yerusaalemu batuula ku ttaka nga basirise, nga beesiize enfuufu ku mitwe era nga beesibye ebikutiya. Abawala abato bakoteka mitwe. Amaaso gange galiko ekifu olw'okukaaba amaziga. Omutima gwange munakuwavu, olw'okuzikirira kw'abantu bange. Abaana abato n'abayonka bazirikira mu nguudo z'ekibuga. Bakaabirira bannyaabwe nga balumwa enjala n'ennyonta. Bazirikira mu nguudo z'ekibuga ng'abafumitiddwa ebiwundu, olwo ne batondokera mu mikono gya bannyaabwe. Leero ŋŋambe ntya, ggwe Yerusaalemu! Nnaakukubagiza ntya? Nkugeraageranye ku ani? Ani yali abonyeebonye nga ggwe? Obuyinike bwo tebukoma, buli nga nnyanja! Essuubi lyo linaava wa? Abalanzi bo baakulimbalimbanga ne batakulaganga bibi byo. Ne bakulowoozesanga nti teweetaaga kwenenya. Bonna abayitawo bakusunga. Banyeenya emitwe gyabwe ne basekerera Yerusaalemu nti: “Kino kye kibuga nno kye baayitanga ekirungi ennyo, ekitenderezebwa ensi yonna?” Abalabe bo bonna bakwogezaako bukyayi. Beesooza ne baluma obujiji, ne bagamba nti: “Tukizikirizza! Luno lwe lunaku lwe twalindiriranga!” Mukama akoze kye yateesa, atuzikirizza awatali kisa nga bwe yatulabula edda. Awadde abalabe baffe okutweyagalirako, ng'abatuusa ku buwanguzi. Ayi Yerusaalemu ebisenge byo byennyini bikaabirire Mukama! Amaziga go gakulukute ng'emigga ekiro n'emisana! Towummula n'akatono, wadde okusumagirako. Zuukuka emirundi mingi mu kiro kyonna, weegayirire Mukama. Fukumula ebikuli ku mutima, osabire abaana bo abato obulamu abakufiirako enjala buli w'oyita mu nguudo. Tunula olabe ayi Mukama, abo b'obonereza bw'otyo. Ddala abakazi abazadde balye abaana baabwe be balera? Era bakabona n'abalanzi battirwe mu Ssinzizo mwennyini? Abavubuka n'abakadde balambaalidde mu nguudo. Abalenzi era n'abawala battiddwa mu lutalo. Obasse n'otosaasirako ku lunaku lw'obusungu bwo. Oyise abalabe bange okuva ku njuyi zonna bajje beekole ekigenyi! Tewali yawonawo wadde eyasigalawo ku lunaku lw'obusungu bwo. Batta abaana bange be nalera nga mbaagala nnyo! Ndi muntu eyabonaabona olw'okubonerezebwa Mukama. Yantambuliza mu kizikiza, omutali katangaala. Tata kumbonereza olunaku lwonna. Ankaddiyizza omubiri n'olususu, ammenyeemenye amagumba. Ansibidde mu kkomera, omuli obuyinike n'obulumi. Antadde mu kizikiza ng'abo abaafa edda. Antaddeko olukomera sirina bwe ntoloka. Ansibye ku lujegere olunene. Ne bwe neekubira ku nduulu okumusaba annyambe, bye nsaba abiziimuula. Akomedde amakubo gange ng'agazimbamu ebisenge eby'amayinja amaase. Anfuukidde eddubu eteega, anfubutukidde ng'empologoma. Angobye n'ankwatira ku mabbali g'ekkubo. Antaaguddetaagudde n'andeka awo! Anaanudde omutego gwe n'andeegamu akasaale ke. Afumise obusaale bwe mu mubiri gwange. Abantu bonna bansekerera, era bannyimba olunaku lwonna. Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza ebikaawa. Ammekesezza oluyinjayinja, anjiye evvu mu maaso. Mbuliddwako emirembe, neerabidde essanyu bwe lifaanana. Awo ne ŋŋamba nti: “Nzigweddemu amaanyi, n'essuubi mu Mukama libuze! “Okulowooza ku bulumi ne ku kubungeeta, binkaayirira ng'omususa. Era mbirowoozaako lunye ne sirema kwennyamira. Naye ate nziramu essuubi, bwe nzijukira kino nti olw'okusaasirwa Mukama tetusaanyizibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Kibeera kiggya buli nkya. Kigumu nnyo kyesigika. Mukama bwe bugagga bwange Kyenva nsuubira mu ye. “Mukama mulungi eri buli amwesiga. Kirungi omuntu agumiikirizenga asuubire era alindirire Mukama okumulokola. Era kirungi omuntu okuva obuto ng'ayize obugumiikiriza. “Omuntu ng'abonaabona kirungi atuuleko yekka asirike, agonde yeetoowaze, wandiba nga wakyaliwo essuubi. Ne bw'avumwa n'akubibwa, abigumira byonna. “Mukama ajjudde ekisa tatusuulirira lubeerera. Newaakubadde atuleetera okunakuwala naye atukwatirwa ekisa, kubanga okwagala kwe kungi. Ky'agenderera si kulumya na kubonyaabonya bantu. “Okulinnyirira abasibe mu makomera gonna, abantu okummibwa ebyabwe ebyabaweebwa Omutonzi, n'okusaliriza mu misango, ebyo Mukama tabisiima. “Ani aliko ky'atuukiriza Mukama nga takkirizza? Ka kibe kirungi oba kibi, Lugaba amala kukkiriza. Omuntu akyali omulamu, yeemulugunyiza ki bw'abonerezebwa olw'ebibi bye? “Twekebere tulabe empisa zaffe, tukyuke tudde eri Mukama. Tuyimuse emitima n'emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu tugambe nti: ‘Tukoze ebibi era tujeemye, era ggwe totusonyiye.’ “Otusibidde obusungu n'otuyigganya, n'otutta nga tosaasira. Weebisseeko ekire, okusaba kwaffe kuleme kukutuukako. Otufudde ntuumu ya busa na bisasiro mu bantu bonna ku nsi. “Tunyoomebwa ne tuvumibwa abalabe baffe bonna. Entiisa n'okunyagibwa bitutuuseeko tuli mu kabi ka kuzikirira. Amaaso gange gakulukusa emigga gy'amaziga olw'okuzikirizibwa kw'abantu bange. “Amaziga gange ganaakulukuta mu ngezi etakalira, okutuusa Mukama mu ggulu lw'anaatunulako wansi n'atulaba. Omutima gwange gwennyamira olw'ebyo ebituuse ku bantu ab'omu kibuga kyaffe. “Abalabe bange banjizze ng'abayigga ekinyonyi, awatali kye bannanga. Bankutte ndi mulamu, ne bansuula mu bunnya, ne basaanikirako ejjinja. Amazzi gaakulukuta, nga gayita ku mutwe gwange ne ŋŋamba nti: ‘Nfudde biwedde!’ “Nakukoowoola, ayi Mukama, nga nsinziira ku ntobo y'obunnya. Nasaba owulire bwe nkaaba, era n'owulira. Wanziramu n'oŋŋamba nti: ‘Totya!’ “Wanziruukirira, ayi Mukama, n'owonya obulamu bwange. Nsalira omusango nsinge, olabye okujoogebwa kwange. Olabye bwe bampalana, n'enkwe zonna ze bansalira. “Owulidde bwe banvuma, ayi Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira. Banjogerako olunaku lwonna, ne banteesaako. Laba, bannyimba nga banjeeyereza buli we babeera. “Ayi Mukama, babonereze, olw'ebyo bye bakoze. Bakolimire, obakakanyaze emitima. Bayigganye, ayi Mukama, obasaanyeewo wansi w'eggulu lyo.” Zaabu waffe ng'afumye! Zaabu omulungi afuuse! Amayinja ag'Essinzizo gasaasaanyiziddwa mu nguudo. Abavubuka b'omu Siyooni abaali ab'omuwendo nga zaabu bayisibwa nga ebisuwa eby'ebbumba. Era n'emisege giyonsa abaana baagyo, naye abantu bange bali nga mmaaya akambuwalira abaana be. Baleka abaana baabwe abawere okufa enjala n'ennyonta. Abaana abato basaba emmere, ne watabaawo agibawa. Abantu abaalyanga emmere esingira ddala obulungi, bafiira enjala mu nguudo. Abaakuzibwa mu kwejalabya, kati beenoonyeza kye banaalya mu ntuumu z'ebisaaniiko! Abantu bange babonerezeddwa n'okusinga abantu b'e Sodoma, Mukama kye yasaanyaawo mu kaseera akatono. Abakungu baffe baali batukula okusinga omuzira, nga beeru okusinga amata. Emibiri gyabwe gyali mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu; era baali banyirivu nga kinya ekyakeeyubula. Kati bagubye ku maaso okusinga n'ebisiriiza. Tewakyaliwo abamanya gye bagudde mu nguudo! Olususu lwabwe lwerangidde ku magumba, lukaze ng'oluku. Abattirwa mu lutalo abo kalekaleko okusinga bano abakalambadde enjala, abatondose empolampola olw'okubulwa kye balya. Akabi akatuuse ku bantu bange nga katiisa! Abakazi abazadde abajjudde okwagala okungi, bafumbye abaana baabwe ne babalya! Mukama asumuludde obusungu bwe obukambwe n'akoleeza omuliro ku Siyooni, ne gukyokya okuggwaawo! Teri n'omu yakkiriza wadde abafuzi mu mawanga, nti omulabe yandiyinzizza okuwaguza n'ayingira mu miryango gya Yerusaalemu! Naye ekyo kyasoboka olw'ebibi by'abalanzi ne bakabona baamu, abattiramu abantu abatalina musango. Baabungeetera mu nguudo zaakyo nga bali nga bamuzibe, nga tebayinza kukwatikako, kubanga boonoonese olw'omusaayi. Abantu ne babeegobako nti: “Muveewo, temutusemberera! Temutukoonanako, temuli balongoofu.” Ne babungeetera mu mawanga nga teri babaaniriza. Mukama takyabaliko: yennyini yabasaasaanya. Bakabona n'abakulembeze tebakyassibwamu kitiibwa. Twakanda kutunula ne tukoowa nga tulinda obuyambi obutajja. Twalindirira obuyambi bw'eggwanga eritayinza kutuwonya. Omulabe yali atukuuma butiribiri nga tetuyinza kutambula mu nguudo zaffe. Obwaffe bwali bukomye, ng'enkomerero yaffe etuuse. Abatuyigganya baasinga empungu mu kuwenyuka amangu; baatusimbako emisinde mu nsozi, era baatuteegera mu ddungu! Baakwasa mu bunnya bwabwe kabaka waffe era obulamu bwaffe, omusiige wa Mukama: oyo gwe twali twesiga okututaasa mu mawanga. Musanyuke mujaguze mmwe Abeedomu n'ab'e Wuuzi! Naye akabi kalibajjira nammwe! Mulitagatta, mweyambule, muswale! Siyooni asasudde olw'ebibi bye, Mukama talituleka mu busibe. Naye mmwe Abeedomu Mukama alibabonereza! Alibikkula ebibi byammwe! Jjukira ayi Mukama, ebitutuuseeko, tunuulira olabe okuswala kwaffe. Ebintu byaffe bitwaliddwa bannamawanga, ennyumba zaffe zirimu bagwira. Bakitaffe battiddwa omulabe, bannyaffe bannamwandu kati. Amazzi tusasulira ge tunywa, era tugula n'enku. Tusibibwa nga mbuzi mu bulago, tukoowa ne tutafuna kiwummulo. Okufuna ke tulya obutafa, tukasaba Bamisiri era n'Abassiriya. Bajjajjaffe abaayonoona tebakyaliwo, naye tubonaabona olw'ebibi byabwe. Tufugibwa baddu, nga tewali wa kutununula mu buyinza bwabwe. Okunoonya emmere tuwaayo bulamu bwaffe, kubanga abatemu babunye buli wantu. Enjala etulwazizza omusujja, ne twokya ng'akabiga! Baakwatira olw'empaka abakazi mu Siyooni, n'abawala mu byalo bya Buyudaaya. Abakungu baffe batwalibwa okuttibwa. Abantu abakulu tebassibwamu kitiibwa. Abavubuka babawaliriza okusa ku lubengo. Abalenzi abato batalantuka nga beetisse ebinywa by'enku. Abantu abakulu tebakyatuula kuteeseza ku mulyango. N'abalenzi n'abawala tebakyayimba. Essanyu mu bulamu bwaffe likomye, tukungubaga mu kifo ky'okuzina. Tetukyalina kituweesa kitiibwa. Zitusanze, kubanga twayonoona. Olw'ekyo twennyamidde mu mitima, amaaso gaffe gazzeeko ekifu, kubanga Olusozi Siyooni lulekeddwa awo ttayo, ebibe bye bikumbirako. Naye ggwe, ayi Mukama, oli kabaka ennaku zonna, era onoofuganga bulijjo. Lwaki okutwerabira bw'otyo! Toliddayo kutujjukira? Tukomyewo gy'oli, ayi Mukama, ozzeewo ebirungi byaffe eby'edda! Oba otusuulidde ddala? Obusungu bwo tebukkakkaneko? Awo olwatuuka ku lunaku olwokutaano olw'omwezi ogwokuna, mu mwaka ogw'amakumi asatu, bwe nali nga ndi wamu n'abasibe abalala ku mabbali g'Omugga Kebari mu Babilooniya, eggulu ne libikkulibwa, ne ndaba ebyo Katonda bye yansobozesa okulaba. Ku lunaku olwo olwokutaano mu mwezi, nga gwe mwaka ogwokutaano bukya Kabaka Yehoyakiini atwalibwa mu buwaŋŋanguse, nze Ezeekyeli kabona, mutabani wa Buuzi, Mukama n'ayogera nange nga ndi mu nsi eyo ey'Abakaludaaya, ku mabbali g'Omugga Kebari. Amaanyi ga Mukama ne gajja ku nze. Awo ne ntunula, ne ndaba embuyaga ey'amaanyi, ekunta ng'eva ebukiikakkono. Ekire ekinene ekyetooloddwa okutangalijja, kyali kirimu omuliro ogumyansa obutasalako. Wakati mu muliro ogwo, mwalimu ekifaanana ng'ekikomo ekizigule. Mu kyo wakati, ne ndabamu ebifaanana ng'ebintu ebiramu bina, ebirabika ng'abantu, naye nga buli kimu kirina obwenyi buna n'ebiwaawaatiro bina. Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n'ebigere byabyo byali ng'ebinuulo by'ennyana, era nga bitangalijja ng'ekikomo ekizigule. Ebintu ebyo ebiramu ebina ebyalina obwenyi n'ebiwaawaatiro, era byalina emikono ng'egy'abantu, nga giri wansi w'ebiwaawaatiro byabyo, ku njuyi zaabyo ennya. Ebiwaawaatiro byabyo byagattibwa buli kimu ku kinnaakyo era ebiramu ebyo byagendanga butereevu mu maaso, nga buli kimu tekikyuka. Byalina ekifaanana ng'obwenyi. Buli kimu kyalina obwenyi ng'obw'omuntu mu maaso, n'obwenyi ng'obw'empologoma ku ludda olwa ddyo, n'obwenyi ng'obw'ente ku ludda olwa kkono, ate n'obwenyi ng'obw'empungu emabega. Bwe bityo bwe byali bifaanana mu bwenyi bwabyo. Ebiwaawaatiro byabyo bwe byeyanjuluzanga waggulu, ebibiri ebya buli kimu ne byekoona ku bya kinnaakyo ekikiriraanye, n'ebirala ebibiri ne bibikka omubiri gwakyo. Buli kiramu kyagendanga butereevu omwoyo gye gubiraza, awatali kukyuka nga bigenda. Wakati w'ebiramu ebyo ebina, waaliwo ekintu ekifaanana ng'amanda ag'omuliro agaaka ng'emimuli. Kyatambulanga ne kidda eno n'eri wakati mu biramu ebyo, era omuliro ogwo, gwayakanga nga guvaamu enjota. Ebiramu ebyo byaddukanga embiro ate ne bidda, nga bw'olaba okumyansa kw'eggulu. Bwe nali nga nkyatunuulira ebiramu ebyo, ne ndaba nnamuziga nnya nga ziri ku ttaka, nnamuziga emu emu ku mabbali ga buli kiramu. Nnamuziga zonna ennya zaali zifaanana. Buli emu yali etangalijja ng'ejjinja ery'omuwendo, era ng'erabika ng'erimu nnamuziga endala wakati waayo. Bwe zityo zaasobolanga okutambulira mu njuyi zonna ennya, awatali kumala kukyuka. Empanka za nnamuziga ezo ennya, zaali mpanvu, nga zitiisa, era nga zijjudde amaaso enjuyi zonna. Ebiramu ebyo bwe byatambulanga, nga nnamuziga zigendera ku mabbali gaabyo era bwe byasitukanga mu bbanga nga ne nnamuziga nazo zisituka. Ebiramu gye byayagalanga okugenda, nga gye bigenda, era nga ne nnamuziga nazo gye zigenda, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwali mu zo. Ebyo bwe byatambulanga, oba bwe byayimiriranga, oba bwe byasitukanga mu bbanga, nga ne nnamuziga zikola kyekimu, kubanga omwoyo gwabyo gwali mu zo. Waggulu w'emitwe gy'ebiramu, waaliyo ekifaanana ng'ebbanga ery'oku ggulu, eritangalijja ng'ekirawuli, era nga litiisa. Wansi w'ebbanga eryo ery'oku ggulu, we waali ebiramu ebyo, nga buli kimu kigolodde ebiwaawaatiro bibiri, ebiwaawaatiro ebyo ne bikoona ku bya kinnewaakyo ekikiriraanye, ate ebibiri ne kibyebikka. Bwe byabuukanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo, nga biwuuma ng'okuyira kw'amazzi amangi, ng'oluyoogaano lw'eggye, era ng'eddoboozi ly'Omuyinzawaabyonna. Bwe byalekeranga awo okubuuka, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo. Bwe byalekeranga awo okubuuka, era nga bissizza wansi ebiwaawaatiro byabyo, ne wabaawo eddoboozi mu bbanga ery'oku ggulu waggulu w'emitwe gyabyo. Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo, waaliwo ekifaanana ng'entebe ya kabaka, etemagana ng'ejjinja ery'omuwendo erya bbululu. Ku ekyo ekifaanana ng'entebe ya kabaka, kwali kutuddeko afaanana ng'omuntu. Waggulu okuva ku kyalabika ng'ekiwato kye, ne ndaba ng'amasamasa ng'ekikomo ekizigule, ekiri ng'omuliro ku njuyi zonna. Ate wansi okuva ku kyalabika ng'ekiwato kye, ne ndaba ekiri ng'omuliro, era nga waliwo okutangalijja wonna w'ali, okufaanana nga musoke mu kire ku lunaku olw'enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama. Bwe nakiraba, ne nneevuunika ku ttaka. Ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera. Oyo eyayogera, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, yimirira njogere naawe.” Bwe yayogera nange, ne wabaawo omwoyo ogwannyingiramu, ne gunnyimiriza, ne mpulira oyo eyayogera nange. N'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, nkutuma eri Abayisirayeli, ab'eggwanga ejjeemu. Bo ne bajjajjaabwe banvaako ne banjeemera, era bakyanjeemedde n'okutuusa kati. Bantu bakakanyavu, era tebanzisaamu kitiibwa. Nkutuma gye bali obategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba. Abajeemu abo, oba banaawuliriza, oba banaagaana okuwuliriza, naye balimanya nga waliwo omulanzi mu bo. “Naye ggwe omuntu, tobatyanga, wadde okutyanga bye boogera, ne bw'onoobeeranga mu myeramannyo n'amaggwa, era n'obeera ne mu njaba ez'obusagwa. Totyanga bye boogera, era totiisibwatiisibwanga bukambwe bwa ntunula ya bajeemu abo. Ojja kubategeeza bye mbagamba, oba bawuliriza oba bagaana okuwuliriza, kubanga bajeemu nnyo nnyini. Naye ggwe omuntu, wulira kye nkugamba. Toba mujeemu nga bo. Yasamya akamwa ko, olye kye nkuwa.” Bwe natunula, ne ndaba omukono ogugoloddwa gye ndi, nga gukutte omuzingo gw'ekitabo. N'agwanjululiza mu maaso gange. Gwali guwandiikiddwako munda ne kungulu, nga muwandikiddwamu ebigambo by'okukungubaga, n'okukuba ebiwoobe, n'obuyinike. Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, lya ekyo ky'olaba, lya omuzingo gw'ekitabo guno, bw'omala, ogende oyogere n'ab'Eggwanga lya Yisirayeli.” Awo ne njasamya akamwa kange, n'andiisa omuzingo gw'ekitabo ogwo. N'aŋŋamba nti: “Gwe omuntu, lya ojjuze olubuto lwo omuzingo gw'ekitabo guno gwe nkuwa, okkute.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki mu kamwa kange. Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, genda eri ab'Eggwanga lya Yisirayeli, obategeeze bye njagala okubagamba. Totumiddwa eri eggwanga erikozesa enjogera gy'otomanyi oba olulimi oluzibu, wabula eri ab'eggwanga lya Yisirayeli. Singa nkutumye mu b'amawanga amangi, ab'enjogera gy'otamanyi era ab'ennimi enzibu, bo bandiwulirizza by'ogamba. Naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli, tebajja kuwuliriza by'obagamba, kubanga tebaagala kuwuliriza nze bye mbagamba. Ab'Eggwanga lya Yisirayeli lyonna ba mputtu, era bakakanyavu. Kaakano naawe nkufudde mukakanyavu nga bo, lw'onoobasobola, ng'okolagana nabo. Nkufudde mugumu nga jjinja ery'embaalebaale. Tobatyanga, era totiisibwatiisibwanga bajeemu abo.” Era n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ssaayo omwoyo ku byonna bye ŋŋenda okukutegeeza, era obigondere. Era genda eri ab'eggwanga lyo abali mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo, obabuulire bye njagala okubategeeza, oba nga banaabiwuliriza, oba nga banaagaana okubiwuliriza.” Awo Mwoyo n'ansitula, era ne mpulira emabega wange eddoboozi ery'omwanguka ennyo, erigamba nti: “Ekitiibwa kya Mukama kitenderezebwe mu ggulu.” Awo ne mpulira eddoboozi ly'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikubaganako, n'okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo, n'okuwuluguma okungi ng'okw'okukankana kw'ensi. Mwoyo n'ansitula n'antwala, ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'obusungu. Amaanyi ga Mukama ne ganfuga. Ne ndyoka nzija e Telabiibu, ku mabbali g'Omugga Kebari awaali abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse, ne mbeera awo mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde olw'ebyo bye nalaba ne bye nawulira. Ennaku omusanvu bwe zaayitawo, Mukama n'ayogera nange. N'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, nkufudde omukuumi w'ab'Eggwamga lya Yisirayeli. Kale wuliranga bye ŋŋamba, obatuuseeko bye mbagamba nga mbalabula. Bwe ŋŋamba omuntu omubi nti: ‘Mazima oli wa kufa,’ naye ggwe n'otomulabula kuva mu bibi bye asobole okuwonya obulamu bwe, talirema kufiira mu bibi bye. Naye okufa kwe, ndikuvunaana ggwe. Kyokka bw'olabula omubi, ye n'atakyuka kuleka bibi bye, wadde okuva mu mpisa ze embi, alifiira mu bibi bye, naye ggwe obulamu obubwo oliba obuwonyezza. “Ate omuntu omulungi bw'akyuka n'ava mu bulungi bwe n'akola ebibi, nange ne mmuleka mu kizibu ekyo n'agwa, alifa. Bw'oliba tomulabudde, alifiira mu bibi bye, n'ebikolwa bye ebirungi bye yakola, tebirijjukirwa. Naye okufa kwe, ndikuvunaana ggwe. Kyokka bw'olabula omuntu omulungi, aleme kukola kibi, n'alabuka n'atakikola, mazima aliba mulamu, era naawe oliba owonyezza obulamu bwo.” Awo ne mpulira mu nze ng'amaanyi ga Mukama gankutteko, n'aŋŋamba nti: “Situka ogende mu lusenyi, eyo gye ndyogerera naawe.” Ne nsituka, ne ŋŋenda mu lusenyi. Ne ndabirayo ekitiibwa kya Mukama, nga bwe nali nkirabidde ku lubalama lw'Omugga Kebari. Ne ngwa ku ttaka nga nneevuunise. Mwoyo n'annyingiramu, n'annyimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Genda weggalire mu nnyumba yo. Laba, ggwe omuntu, ojja kuteekebwako emiguwa, bagikusibise, oleme kufuluma mu bo. Nja kusannyalaza olulimi lwo, lukwatire ku kibuno kyo, okwogera kukuleme, oleme okulabula abantu abo abajeemu. Naye bwe nnaayogera naawe, nja kusumulula olulimi lwo, osobole okwogera, obagambe nti: ‘Mukama, Katonda agamba nti ayagala okuwulira awulire, atayagala kuwulira alekeyo,’ kubanga ab'eggwanga lino, bajeemu.” “Era, ggwe Omuntu, kwata ettoffaali, oliteeke mu maaso go, olikubeko ekifaananyi ky'Ekibuga Yerusaalemu. Era okulaga okuzingizibwa kw'ekibuga ekyo, ekifaananyi kyakyo ekyo, kizimbeko ebigo, okituumireko ekifunvu, oteekewo ensiisira ez'okukirumba, okisimbeko eby'okutomera ebisenge byakyo enjuyi zonna. Kwata olusaniya olw'ekyuma, oluteekewo okuba ekigo eky'ekyuma wakati wo n'ekibuga. Otunuulire ekibuga kibe nga kizingiziddwa, nga ggwe okizingizizza. Ako ke kanaaba akabonero akalabula Eggwanga lya Yisirayeli. “Weebakire ku ludda lwo olwa kkono oluteekeko ebibi by'ab'Eggwanga lya Yisirayeli. Ennaku z'onoomala ng'olwebakiddeko, onoosasuliramu olw'ebibi byabwe. Nkusalidde omuwendo gwa nnaku ebikumi bisatu mu kyenda, ogwenkana n'omuwendo gw'emyaka gye balimala nga babonerezebwa. Bw'otyo bw'onoomala ennaku ezo nga weetisse ebibi by'ab'Eggwanga lya Yisirayeli. Bw'olimalako ennaku ezo, olyebakira ku ludda lwo olwa ddyo, oboneebone olw'ebibi by'ab'omu Buyudaaya, okumala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka ogw'ekibonerezo kyabwe. “Simba amaaso go ku Yerusaalemu ekizingiziddwa, okigalulire ekikonde ky'okifunyidde, olange ebigenda okukituukako. Nja kukusiba n'emiguwa, obe nga tosobola kwekyusa okwebakira ku ludda olulala, okutuusa ennaku z'olizingizibwa lwe ziriggwaako. “Kaakano twala eŋŋaano, ne bbaale, n'ebijanjaalo, ne kawo, n'omuwemba, n'obulo, obitabule wamu, obifumbemu emmere ey'omugoyo, gy'onoolyanga mu nnaku ebikumi ebisatu mu ekyenda, z'olimala nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono. Emmere gy'onoolyanga, ebenga mpime. Ebenga kimu kyakutaano ekya kilo olunaku, ng'ogiriira mu kiseera kye kimu buli lunaku. N'amazzi onoonywanga mapime, ebitundu bibiri byakusatu ebya lita, ng'oganywera mu kiseera kye kimu buli lunaku. Emmere onoolyanga nkalirire nga migaati gya bbaale, era onoogikaliriranga ku manda ga mpitambi ya bantu, ng'ogikalirira abantu balaba.” Awo Mukama n'agamba nti: “Bwe batyo Abayisirayeli bwe banaalyanga emmere eteri nnongoofu, nga bali mu mawanga gye ndibasaasaanyiza.” Awo ne ŋŋamba nti: “Woowe, Mukama, Katonda! Laba, nze sseeyonoonanga, kubanga okuviira ddala mu buto bwange n'okutuusa kati, siryanga ku nnyama ya nsolo efudde yokka, wadde etaaguddwa nsolo ginnaayo, era siryanga ku kintu ekiyitibwa eky'omuzizo.” Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti: “Kale nkukkirizza okozese obusa bw'ente, mu kifo ky'empitambi y'abantu, obwo bw'oba ofumbisa emmere yo.” Era n'ayongera okuŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ndikendeeza emmere mu Yerusaalemu. Banaalyanga mpime nga beeraliikirivu. N'amazzi banaanywanga magere bugezi, nga bennyamivu. Balibulwa emmere n'amazzi, batunulaganeko nga basobeddwa, bayongobere olw'ebibi byabwe.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kwata ekitala ekyogi, okikozese ng'akamwano k'omumwi w'enviiri, okimwese enviiri zo n'ekirevu kyo. Olwo okwate minzaani, opime enviiri ezo, era ozigabanyeemu. Ekitundu ekimu ekyokusatu okyokere mu kifaananyi ky'ekibuga kye wakubye ku toffaali, ennaku ez'okuzingiza ekibuga ekyo nga ziweddeko. Ekimu ekyokusatu ekirala okikwate, ogende ng'okisalaasala n'ekitala nga weetooloola ekibuga. N'ekimu ekyokusatu ekisigaddewo, okisaasaanyize mu bbanga, kitwalibwe embuyaga, nze nsowoleyo ekitala kizigoberere. Ku nviiri ezo, sigazaawo entonotono, ozisibe mu kikondoolo ky'omunagiro gwo. Ne ku ezo, otwaleko ezimu ozisuule mu muliro, ziggye, ziveeko omuliro gusaasaanire eggwanga lya Yisirayeli lyonna.” Mukama Katonda n'agamba nti: “Ekibuga kino Yerusaalemu, nakiteeka wakati w'amawanga era n'ensi ezikyetoolodde. Naye kijeemedde ebiragiro byange n'amateeka gange, ne kikola ebibi n'ensi ezikyetoolodde. Ab'omu Yerusaalemu bajeemedde ebiragiro byange, era bagaanye okukwata amateeka gange. N'olwekyo Nze Mukama Katonda ŋŋamba nti nga bwe muli ab'amawaggali okusinga ab'amawanga agabeetoolodde, ne mujeemera ebiragiro byange, ne mutakwata mateeka gange, oba waakiri okukwata amateeka ag'amawanga agabeetoolodde, kale kaakano nze nzennyini ndi mulabe wammwe, era ndisala omusango okubasinga mmwe, ng'amawanga gonna galaba. Olw'ebyo byonna bye mukola ate nga nze mbikyayira ddala, ndikolera mu mmwe kye sikolanga, era kye siriddamu kukola. Abazadde, baliriira abaana baabwe mu Yerusaalemu, n'abaana balirya bazadde baabwe. Bwe ntyo bwe ndibabonereza mmwe, era abaliba basigaddewo nga balamu ndibasaasaanyiza buli ludda embuyaga gye zikuntira. “Kale Nze Mukama Katonda, ndayira nti nga bwe ndi omulamu, bino bye ŋŋamba nti ggwe Yerusaalemu, nga bwe wayonoona Ekifo kyange Ekitukuvu ng'okikoleramu ebibi byonna n'ebyenyinyalwa byonna, kyendiva nsanjaga abantu abakulimu, awatali kusaasira. Ekimu ekyokusatu eky'abantu bo balifa endwadde, era balimalibwawo enjala mu ggwe. N'ekitundu ekimu ekyokusatu kirittibwa mu lutalo okukwetooloola. N'ekitundu ekimu ekyokusatu ndikisaasaanyiza wonna embuyaga w'ekuntira, ne nsowola ekitala ekiribalondoola. “Obusungu bwange bwe butyo bwe bulituukirira ku bo, ne ndyoka mmatira nga mbamaliddeko ekiruyi kyange. Bwe ndimala okubamalirako ekiruyi kyange, olwo mulimanya nga Nze Mukama, nze njogedde nammwe, kubanga munnyiizizza. Ab'omu mawanga gonna agakwetoolodde baliyitawo, ne balaba bwe nkufudde amatongo, ne bakuvuma. Bwe ndikubonereza nga ndi mu busungu n'ekiruyi, ab'amawanga gonna agakwetoolodde balitya. Balikutunulako ne beewuunya, ne bakunyooma. Nze Mukama nkyogedde. Ndikendeeza emmere gye mubadde mufuna, olwo ne mulumwa enjala. Enjala eribaluma, ne muwulira ng'obusaale obusongovu obuweerezebwa okubazikiriza. Ndisindika enjala n'ensolo enkambwe, ne bitta abantu bo. Era endwadde, n'obutemu, n'entalo, birijja mu ggwe. Nze Mukama njogedde.” Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tunula ku nsozi za Yisirayeli, ozivumirire, ozigambe nti: ‘Mmwe ensozi za Yisirayeli, muwulire Mukama Katonda ky'agamba. Mukama Katonda agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu nti mulabe, nze nzennyini ndireeta olutalo ku mmwe, ne nsaanyaawo ebifo byammwe ebigulumivu, abantu mwe basinziza balubaale. Alutaari za balubaale bammwe zirirekebwa ttayo, ebifo mwe banyookereza obubaane birimenyebwa. Abantu bammwe abalittibwa ndibasuula mu maaso g'ebifaananyi bye basinza. Ndituuma emirambo gy'Abayisirayeli mu maaso g'ebifaananyi bye basinza, era ndisaasaanya amagumba gaabwe okwetooloola alutaari zammwe. Yonna Abayisirayeli gye babeera, ebibuga byabwe birizikirizibwa, ebifo ebigulumivu mwe basinziza balubaale birekebwewo ttayo, alutaari zaabwe zoonoonebwe zifuuke matongo, ebifaananyi bye basinza bimenyebwe biggweewo, n'ebifo omwoterezebwa obubaane bizikirizibwe, n'ebintu byonna bye baakola bimalibwewo. Abalittibwa baligwa wakati mu mmwe, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.’ “Naye nditalizaawo abamu ne batattibwa mu lutalo, ne basaasaanyizibwa mu mawanga, gye balitwalibwa nga basibe. Kale abo abaliba bawonyeewo, balinzijukira nga bali eyo mu mawanga, ne bamanya bwe namenya emitima gyabwe egitali myesigwa egyanvaako, n'amaaso gaabwe ge baalalambaza nga bagazza ku bitali Nze Katonda, ne babisinza. Kale balyetamwa bo bennyini olw'ebibi byabwe, n'olw'ebyenyinyalwa bye bakola. Balimanya nga Nze Mukama, era nga saatiisatiisa butiisatiisa bwe nagamba okubatusaako akabi ako.” Mukama Katonda agamba nti: “Kunya engalo zo, era osambesambe wansi ku ttaka, okungubage olw'ebibi byonna, n'olw'ebyenyinyalwa Abayisirayeli bye baakola, bajja kufiira mu lutalo, battibwe enjala n'endwadde. Abali ewala, bajja kulwala bafe; abali okumpi, bajja kuttirwa mu lutalo; n'abo abaliwonawo ne bazingizibwa, balifa enjala. Bwe ntyo bwe ndimalira ekiruyi kyange ku bo. Emirambo gy'abattiddwa bwe giriba nga gigaŋŋalamye wakati mu bifaananyi bye basinza, okwetooloola alutaari zaabwe, ku buli kasozi akawanvu, ne ku ntikko zonna ez'ensozi, ne wansi wa buli muti ogw'amakoola, ne wansi wa buli muvule omuziyivu, mu buli kifo mwe baaweerangayo ebitambiro ebyokebwa eri ebifaananyi bye basinza, olwo lwe mulimanya nga Nze Mukama. Ndigolola omukono gwange okubalwanyisa, ne nfaafaaganya ensi yaabwe gye babeeramu, n'ezika n'eba matongo, okuva ku ddungu okutuuka e Ribula. Olwo lwe balimanya nga Nze Mukama.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, Mukama Katonda agamba ensi ya Yisirayeli nti: enkomerero etuuse ku nsi eno yonna. Kaakano enkomerero yo etuuse, era nja kukulaga obusungu bwange, nkusalire omusango nga nsinziira ku ebyo bye wakola, nkubonereze olw'ebyenyinyalwa byonna bye wakola. Sirikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa, naye ndikubonereza olw'ebyenyinyalwa byonna bye wakola, olyoke otegeere nga Nze Mukama.” Mukama Katonda agamba nti: “Akabi kajja, era kaddirirwe akabi, kaako katuuse! Enkomerero etuuse, ddala etuuse era ejjiridde ggwe, yiiyo etuuse! Mmwe abatuuze b'omu nsi eno, akabi kaboolekedde. Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde, olunaku olw'okubonaabona, sso si olw'okujaganyizaako ku nsozi! “Kaakano nnaatera okukulaga obusungu bwange, nkumalireko ekiruyi kyange, nkusalire omusango okusinziira ku nneeyisa yo, era nkubonereze olw'ebyenyinyalwa byonna bye wakola. Sijja kukusaasira wadde okukukwatirwa ekisa. Nja kukubonereza olw'ebyenyinyalwa bye wakola. Kale mulimanya nga Nze Mukama, era nga Nze mbonereza.” Laba olunaku luuluno lutuuse. Okusalirwa omusango kutuuse. Okukola eby'obukambwe kweyongedde. Okwekulumbaza kuyitiridde. Okukola eby'obukambwe kweyongedde, ne kuviiramu abantu okukola akabi ku balala. Ku byabwe tewaliba kisigalawo, ka bube bungi bwabwe, ka bube bugagga bwabwe, era ku bo tewaliba mulungi wadde waakitiibwa asigalawo. Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde, agula aleme kusanyuka, wadde atunda okunakuwala, kubanga Mukama asunguwalidde bonna. Omusuubuzi talisobola kuddamu kufuna by'afiiriddwa ne bw'aliwangaala, kubanga obusungu bwa Mukama butwaliramu bonna, era tewali alinyweza bulamu bwe nga yeesigamye ku kukola bibi. Bafuuye eŋŋombe bonna okwetegeka, naye tewali agenda mu lutalo, kubanga Mukama abasunguwalidde bonna. Waliwo okuttiŋŋana ebweru, n'abali munda bafa endwadde n'enjala. Ali mu ttale alittibwa enjala n'endwadde. Naye n'abo abaliwonawo ne baddukira ku nsozi, baliba nga bukaamukuukulu obutidde mu biwonvu ne buddukayo. Bonna balinakuwala, buli omu ng'anyolwa olw'ebibi bye. Emikono gyabwe giriyongobera, amaviivi gaabwe ne gatekemuka, ne gakubagana. Balyambala ebikutiya ne bakwatibwa ensisi. Balimwa emitwe gyabwe gyonna, ne bawulira ensonyi n'okuswala. Balisuula ffeeza waabwe mu nguudo, beggyeko ne zaabu waabwe ng'ekitagasa, kubanga zaabu ne ffeeza tebiriyinza kubawonya, ku lunaku Mukama lw'aliragirako obusungu bwe. Ensimbi zaabwe tebalizikozesa kwekkusa na kumatira, kubanga ze zaabaviirako okugwa mu bibi. Mukama yazibawa bakolemu ebintu ebiyonjo ebyekitiibwa, naye bo baakolamu bifaananyi ebitasaana, na bintu byabwe ebyenyinyalwa. Mukama kyavudde aleka zibafuukire ekintu ekitali kirongoofu. Mukama agamba nti: “Ndireka abagwira okunyaga ebyobugagga ebyo, n'abamenyi b'amateeka mu nsi eyo okubifuula omugabo gwabwe n'okubyonoona. Siritunulanayo nga boonoona Ekifo kyange Ekitukuvu, era abanyazi baliyingiramu ne bakyonoona, ne bakifuula matongo. “Kola olujegere, kubanga ensi ejjudde emisango gy'obutemu, n'ekibuga kijjudde ebikolwa eby'obukambwe. Kyendiva ndeeta abagwira abasinga obubi, ne beefunira amaka gammwe, era ndikomya okwekuza kw'abalwanyi bammwe ab'amaanyi, n'ebifo byammwe mwe musinziza biryonoonebwa. Okuzikirira kujja, era balinoonya emirembe, naye nga tegiriiwo. Akabi kaliddirira akabi, n'eŋŋambo ne ziddirira eŋŋambo. Balisaba abalanzi okubamanyisa bye bafunidde mu kulabikirwa, naye kabona aliba takyalina mateeka g'ayigiriza bantu, n'abakadde balibulwa amagezi ge bawa abantu. Kabaka alikungubaga, n'abakungu baliggwaamu essuubi. Abantu balikankana olw'okutya. Ndibabonereza okusinziira ku byonna bye baakola. Ndibasalira omusango nga bwe bagusalidde abalala. Olwo balimanya nga Nze Mukama.” Ku lunaku olwokutaano olw'omwezi ogw'omukaaga mu mwaka ogw'omukaaga nga tuli mu buwaŋŋanguse, bwe nali nga ntudde mu nnyumba yange, era n'abakulembeze ba Buyudaaya nga batudde awo mu maaso gange, amaanyi ga Mukama Afugabyonna ne gajja ku nze. Bwe natunula, ne ndaba ekyanfaananira ng'omuntu ayakaayakana ng'omuliro. Okuva ku kiwato kye okukka wansi, yali afaanana ng'omuliro. N'okuva ku kiwato kye okwambuka, yali amasamasa ng'ekikomo ekizigule. N'agolola ekyandabikira ng'omukono, n'ankwata omuvumbo gw'enviiri. Mu kulabikirwa kuno, Mwoyo wa Katonda n'ansitula waggulu mu bbanga, n'antwala e Yerusaalemu, ku luggi olw'omulyango gw'oluggya lw'Essinzizo olwomunda olw'ebukiikakkono, awaali ekifaananyi ekinyiiza ennyo Katonda. Eyo ne ndabirayo ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli, ekyali kifaanana nga kye nalabira mu lusenyi. Katonda n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, yimusa amaaso go, otunule ebukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula ebukiikakkono, ne ndabayo ekifaananyi ekinyiiza ennyo Katonda. Kyali ku mulyango ogw'ebukiikakkono, okumpi ne alutaari. Katonda n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, olaba kye bakola? Olaba ebyenyinyalwa ebyenkanidde awo, Abayisirayeli bye bakolera wano, ebindeetera okwesamba mbeere wala n'ekifo kyange ekitukuvu? Naye ojja kulaba n'ebyenyinyalwa ebirala ebisingawo.” N'antwala ku mulyango gw'oluggya olw'ebweru. Bwe natunula, ne ndaba ekituli ekikubiddwa mu kisenge. Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kuba ekituli mu kisenge.” Ne nkikubamu, ne kifuuka omulyango. N'aŋŋamba nti, “Yingira olabe ebibi ebyenyinyalwa bye bakolera wano.” Ne nnyingira, ne ndaba ng'ebisenge eby'enjuyi zonna byali bitoneddwako ebifaananyi by'ebyewalula ebya buli ngeri, n'eby'ensolo ezitali nnongoofu, n'eby'ebintu ebirala Abayisirayeli bye basinza. Mu maaso gaabyo, waali wayimiriddewo abasajja nsanvu, abamu ku bakulembeze b'Eggwanga lya Yisirayeli, omwali ne Yaazaniya mutabani wa Safani. Buli omu yali akutte ekyoterezo ky'obubaane, omukka gw'ebyoterezo ebyo nga gunyooka. Katonda n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, olabye abakulembeze b'Eggwanga lya Yisirayeli kye bakolera mu nkukutu, buli omu mu kisenge omuli ebifaananyi by'asinza? Kubanga bagamba nti, ‘Mukama tatulaba. Mukama yayabulira ensi.’ ” Mukama era n'aŋŋamba nti: “Ojja kulaba n'ebyenyinyalwa ebirala bye bakola.” Awo n'antwala ku mulyango gw'Essinzizo ogw'obukiikakkono, ng'eriyo abakazi abakaabira Lubaale Tammuzi Awo n'ambuuza nti: “Obirabye ebyo, ggwe omuntu? Era nno ojja kwongera okulaba ebyenyinyalwa ebisinga ne ku ebyo.” Olwo n'antwala mu luggya olwomunda olw'Essinzizo lya Mukama. Eyo okumpi n'omulyango gw'Ekifo Ekitukuvu, wakati w'ekisasi ne alutaari, waaliwo abasajja ng'amakumi abiri mu bataano. Baali bakubye amabega Ekifo Ekitukuvu, nga batunudde ebuvanjuba, era nga basinza enjuba evaayo. Mukama n'aŋŋamba nti: “Obirabye ebyo, ggwe omuntu? Abantu b'omu Buyudaaya tekibamala okukola ebyenyinyalwa ebyo byonna by'olabye wano, naye bongerako n'okujjuza ebikolwa eby'obukambwe mu nsi yaabwe, ne bansosonkereza okusunguwala. Laba bwe banvuma mu ngeri esingira ddala okuba ey'obujoozi! Kale nno nange ndibamalirako ekiruyi kyange. Siribatunuuliza kisa na busaasizi, era ne bwe balinneegayirira nga baleekaana, siribawuliriza.” Awo ne mpulira nga Mukama ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Mujje mmwe abagenda okubonereza ekibuga. Buli omu ajje ng'akutte mu mukono gwe ekyokulwanyisa kye nnamuzisa.” Amangwago abasajja mukaaga ne bayita mu mulyango gw'Essinzizo ogw'engulu, ogutunudde ebukiikakkono, ne bajja nga buli omu akutte ekissi. Mu bo mwajjiramu omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru, ng'alina ku lusegere lwe eccupa erimu bwino ow'okuwandiisa. Ne bayingira, ne bayimirira ku mabbali ga alutaari ey'ekikomo. Ekitangaala ekimasamasa ekiraga ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli ne ndaba nga kyali kivudde waggulu ku bakerubi kwe kyali, ne kidda ku mulyango gw'Essinzizo. Mukama n'ayita omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru, eyalina ku lusegere lwe eccupa ya bwino ow'okuwandiisa. Mukama n'amugamba nti: “Genda oyiteeyite mu kibuga Yerusaalemu, oteeke akabonero ku byenyi by'abantu abanakuwadde era abakaaba olw'ebyenyinyalwa ebikolerwa mu kyo.” N'abalala n'abagamba, nga nze mpulira, nti: “Mmwe, muyiteeyite mu kibuga nga mumuvaako emabega, mutte. Temusonyiwa n'omu. Temubaako gwe mukwatirwa kisa. Mutte abakadde, n'abalenzi n'abawala, n'abaana abato, n'abakazi, naye buli aliko akabonero temumusemberera. Era mutandikire mu Kifo kyange Ekitukuvu.” Awo ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso g'Essinzizo. Era n'abagamba nti: “Essinzizo mulyonoone mujjuze empya zaalyo emirambo gy'abattiddwa. Kale mugende.” Awo ne bagenda, ne batta abantu mu kibuga. Awo olwatuuka, bwe baali nga batta, era nga nze nsigadde awo nzekka, ne nvuunama nga nneevuunise ku ttaka, ne nkuba ekiwoobe, ne ŋŋamba nti: “Woowe, ayi Mukama Afugabyonna! Olw'obusungu obungi bw'olina ku Yerusaalemu, onotta Abayisirayeli bonna abasigaddewo, obamalewo?” Mukama n'anziramu nti: “Ebibi by'ab'Eggwanga lya Yisirayeli ne Buyudaaya biyitiridde obungi! Ensi ejjudde omusaayi gw'abatemuddwa, n'ekibuga kikubyeko ebitali bya bwenkanya. Bagamba nti Nze Mukama nayabulira ensi yaabwe, n'olwekyo siraba bye bakola. Bwe ntyo nno nange sijja kubasonyiwa, wadde okubakwatirwa ekisa. Nja kuwoolera eggwanga ku bo olw'ebyo bye bakoze.” Awo omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru, alina ku lusegere lwe eccupa erimu bwino ow'okuwandiisa, n'akomawo, n'azza obubaka, n'agamba nti: “Nkoze nga bw'ondagidde.” Bwe natunula mu bbanga eryali waggulu w'emitwe gy'abakerubi, ne ndaba waggulu waabwe ekifaanana ng'entebe ey'obwakabaka ekoleddwa mu jjinja eriyitibwa Safiro. Katonda n'agamba omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru nti: “Yingira wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wansi w'abakerubi, oggyeyo amanda agakoledde omuliro, agajjuza ebibatu byo byombi, ogamansire ku kibuga.” N'ayingira nga mmulaba. Omusajja bwe yayingira, bakerubi baali bayimiridde ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo. Ekire ne kijjuza oluggya olwomunda. Ekitangaala ekimasamasa eky'ekitiibwa kya Mukama ne kisituka okuva ku bakerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango gw'Essinzizo, Essinzizo lyonna ne lijjula ekire, oluggya ne lujjula ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama. Okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'abakerubi ne kuwulirwa ne mu luggya olw'ebweru, nga kuli ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinzawaabyonna bw'aba ng'ayogera. Awo olwatuuka, Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru nti: “Ggya omuliro wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wakati w'abakerubi,” omusajja n'ayingira, n'ayimirira ku mabbali ga nnamuziga. Awo omu ku bakerubi n'agolola omukono gwe ng'asinziira wakati w'abakerubi, n'atoola ku muliro ogwali wakati w'abakerubi, n'aguteeka mu bibatu by'oyo ayambadde ebyambalo ebyeru. Oyo n'agutwala, n'afuluma. Awo ne ndaba mu bakerubi ekifaanana ng'omukono gw'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabwe. Bwe natunula, ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga emu emu ku mabbali ga buli kerubi. Zinnamuziga ezo zaali zifaanana ng'amayinja ag'omuwendo agayitibwa berulo. Zonna ennya zaali zifaanana mu ndabika yaazo, nga gy'obeera nti nnamuziga eri munda wa nnamuziga. Mu kutambula, bakerubi baayinzanga okugenda ku buli ludda, ku njuyi zaazo zonna ennya, nga tebamaze kukyuka balyoke bagende, wabula nga bwe baagala okugenda, buli omutwe gwabwe gye gutunudde nga gye bagenda, awatali kumala kukyuka. Omubiri gwabwe gwonna, n'amabega, n'emikono n'ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga zaabwe ezo ennya ze baalina, byali bijjudde amaaso enjuyi zonna. Nawulira nga zinnamuziga baziyita “Zinnamuziga ezeetooloola.” Buli kerubi yalina obwenyi buna. Obusooka bwali bwenyi bw'ente, obwokubiri bwali bwenyi bwa muntu, obwokusatu bwali bwenyi bwa mpologoma, n'obwokuna bwali bwenyi bwa mpungu. Bakerubi abo ne babuuka ne bagenda waggulu mu bbanga. Bakerubi abo bye biramu bye nali ndabidde ku mabbali g'Omugga Kebari. Bakerubi abo bwe baabuukanga ne bagenda mu bbanga, zinnamuziga ne zigendera ku mabbali gaabwe. Bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okubuuka okuva ku ttaka, era zinnamuziga zaagendanga nabo. Bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira, era bwe baabuukanga waggulu mu bbanga nazo ne zibuuka wamu nabo, kubanga omwoyo gw'ebiramu ebyo gwali mu zo. Awo ekitangaala ky'Ekitiibwa kya Mukama ne kiva waggulu ku mulyango gw'Essinzizo, ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. Bakerubi ne banjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne babuuka okuva ku ttaka nga ndaba, ne zinnamuziga ne zigenda wamu nabo. Ne bayimirira ku luggi lw'Omulyango Ogw'ebuvanjuba ogw'Essinzizo, ng'ekitangaala ky'Ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kibali waggulu. Ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Yisirayeli ku mabbali g'Omugga Kebari, ne mmanya nga be bakerubi. Buli omu yalina obwenyi buna, era buli omu yalina ebiwaawaatiro bina. Wansi w'ebiwaawaatiro byabwe, waaliwo ekifaanana ng'emikono gy'abantu. Endabika y'obwenyi bwabwe yali ddala ng'obwenyi bwe nalabira ku mabbali g'Omugga Kebari. Mu ndabika yaabwe yennyini, baatambulanga beesimbye. Mwoyo wa Mukama era n'ansitula n'antwala ku Mulyango Ogw'ebuvanjuba ogw'Essinzizo, ogutunula ebuvanjuba. Eyo ku mulyango ogwo we guggulira, ne ndabayo abasajja amakumi abiri mu bataano, nga mu bo mulimu ne Yaazaniya mutabani wa Azzuri, ne Pelatiya mutabani wa Benaaya, abakulembeze b'abantu. Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, bano be bantu abateesa okukola ebibi, era abawa amagezi amabi mu kibuga kino. Bagamba nti: ‘Ekiseera kinaatera okutuuka eky'okuzimba amayumba. Ekibuga kino ye ntamu efumba, era ffe nnyama efumbwamu.’ Kale langa, ggwe omuntu, langa obavumirire.” Awo Mwoyo wa Mukama n'ajja ku nze, n'aŋŋamba nti: “Yogera nti Mukama agamba nti: ‘Mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mmanyi bye mugamba, ne bye mulowooza. Mweyongedde okutta abantu mu kibuga kino, enguudo zaakyo ne muzijjuza emirambo.’ “Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti ddala ekibuga ntamu, era abantu be mutirimbula ne bagaŋŋalama mu kyo, abo ye nnyama. Naye mmwe ndikibagobamu. Mutidde ekitala, naye ndireeta abalina ebitala ne babalumba. Ndibaggya mu kibuga kino, ne mbawaayo mu mikono gy'abagwira, ne mbabonereza olw'emisango gye mwazza. Mulittibwa mu lutalo wano mu nsi ya Yisirayeli. Olwo mulimanya nga Nze Mukama. Ekibuga kino tekiribakuuma ng'entamu bw'ekuuma ennyama mu yo. Ndibabonerereza buli we mulibeera mu Yisirayeli. Kale mulimanya nga Nze Mukama, era nga mu kukolera ku biragiro by'ab'amawanga agabeetoolodde, mujeemedde amateeka gange, era temutuukirizza bye mbakuutira.” Awo olwatuuka, bwe nali nga nkyalanga ebyo, Pelatiya mutabani wa Benaaya n'afa. Ne ngwa ku ttaka nga nneevuunise, ne ndeekaana mu ddoboozi ery'omwanguka, ne ŋŋamba nti: “Woowe, ayi Mukama, Katonda! Onoomalirawo ddala Abayisirayeli abasigaddewo?” Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, baganda bo, n'ab'eggwanga lyammwe bwe muli mu buwaŋŋanguse, be Bayisirayeli bonna, abantu ababeera mu Yerusaalemu baboogerako nga bagamba nti mmwe muvudde awali Mukama, era nti bo Mukama b'awadde ensi eyo ebe yaabwe. “Kale kaakano tegeeza abo bwe muli mu buwaŋŋanguse nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti newaakubadde nga nabaggya mu nsi yaabwe ne mbatwala ewala mu mawanga, ne mbasaasaanyiza mu nsi nnyingi, naye mu kiseera kino ekiriwo nja kubeera wamu nabo mu nsi ze balimu. “Kale bategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, era ndibawa ensi ya Yisirayeli.’ Kale bwe balikomawo, baliggyayo ebintu byonna eby'ekivve n'ebyenyinyalwa bye balisangawo. Ndibawa omutima omuggya n'endowooza empya. Ndiggya mu bo omutima omukalubo ng'ejjinja, ne mbawa omutima omuwulize. Olwo banaakwatanga amateeka gange, bakolenga bye nabalagira. Banaabanga bantu bange, nze ne mba Katonda waabwe. Naye abo kaakano abamalidde omutima gwabwe ku by'ekivve n'ebyenyinyalwa, ndibabonereza olw'ebibi bye bakola. Bwe ntyo bwe ŋŋamba Nze Mukama Afugabyonna.” Awo bakerubi ne basitula ebiwaawaatiro byabwe ne babuuka mu bbanga, ne zinnamuziga nga zibali ku mabbali, n'ekitangaala eky'ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kyali ku bo waggulu. Ekitangaala eky'ekitiibwa kya Mukama ne kisituka ne kiva wakati w'Ekibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku ludda lw'ekibuga olw'ebuvanjuba. Mu kulabikirwa, Mwoyo wa Katonda n'ansitula, n'ankomyawo eri abaali mu buwaŋŋanguse e Babilooniya. Olwo ebyo bye nalabira mu kulabikirwa ne bikoma. Ne ntegeeza abaali mu buwaŋŋanguse, ebintu byonna Mukama bye yali andaze. Era Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso, naye tebalaba. Balina amatu naye tebawulira, kubanga bajeemu. “Kale kaakano, ggwe omuntu, siba omugugu, ng'omuntu adduka okunoonya obubudamo gwe yandisibye, osituke osenguke misana ng'abantu balaba. Osenguke mu kifo kyo, odde mu kifo ekirala, nga balaba. Oboolyawo banaabaako kye balabukamu, newaakubadde nga bajeemu. Era emisana nga balaba, siba ebintu, ng'omuntu adduka okunoonya obubudamo, ositule oveeyo akawungeezi nga balaba, ogende ng'abantu bwe bava ewaabwe okugenda mu buwaŋŋanguse. Kuba ekituli mu kisenge, oyiseemu ebintu byo nga balaba. Bisitulire ku kibegabega kyo nga bakulaba, obifulumye ekizikiza nga kikutte era nga weebisse ku maaso, nga tolaba gy'olaga, kubanga nkutaddewo obe akabonero akalabula Abayisirayeli.” Awo ne nkola nga Mukama bwe yandagira. Ku olwo, naggyamu ebintu byange, ne nsiba omugugu ng'omuntu agenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ako, nze nzennyini ne nkuba ekituli mu kisenge, ne nfulumya ebintu byange ng'obudde bukwata, ne mbisitulira ku kibegabega kyange ng'abantu balaba. Awo enkeera Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, Abayisirayeli abajeemu, tebakubuuzizza nti: ‘Okola ki?’ Bategeeze ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Obubaka buno bwa kabaka afuga mu Yerusaalemu, era bwa Bayisirayeli bonna abali mu Yerusaalemu omwo.’ Bategeeze nti ky'okoze, ke kabonero k'ekyo ekigenda okubatuukako: baligobebwa ewaabwe, ne bagenda mu buwaŋŋanguse. Ne kabaka afuga mu bo alisitulira omugugu gwe ku kibegabega mu kizikiza, n'afuluma. Balikuba ekituli mu kisenge okuyisaamu ebintu okubifulumya. Kabaka alyebikka ku maaso n'atalaba kkubo ly'akwata kugenda. Era ndimutega ne mmukwasa mu kitimba kyange. Ndimutwala e Babilooni, mu nsi y'Abakaludaaya, gy'alifiira nga talabye kibuga ekyo. Ndisaasaanyiza buli ludda abo bonna abamwetoolodde okumuyamba, n'abagoberezi be bonna, era nditeekawo abantu ababawondera okubatta. “Bwe ndibasaasaanyiza mu mawanga amalala ne mbabunya mu nsi nnyingi, balimanya nga Nze Mukama. Naye ndirekawo abamu ku bo abatonotono, abaliwona okuttibwa mu lutalo, n'okuttibwa enjala, n'endwadde, balyoke bategeere, nga bali eyo mu mawanga, nga bye baakola byali byenyinyalwa, era bamanye nga Nze Mukama.” Era Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, emmere yo girye ng'okankana, n'amazzi oganywe ng'ojugumira, era nga weeraliikirira, ogambe abantu ab'omu nsi eno nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba abo abali mu Yerusaalemu, mu nsi ya Yisirayeli nti balirya emmere nga beeraliikirira, era balinywa amazzi nga bali mu kutya. Ensi yaabwe eriggyibwamu byonna ebirimu, kubanga bonna abagibeeramu bakoze ebitasaana. N'ebibuga ebirimu abantu kaakano birizikirizibwa, ensi n'efuulibwa amatongo. Olwo balimanya nga Nze Mukama.’ ” Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Yisirayeli lwe mugera nti: ‘Ebiseera biyita, naye ebiragibwa mu kulabikirwa ne bitatuukirira.’ Kale kaakano bategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna ndikomya olugero olwo. Tebaliddayo kulukozesa mu Yisirayeli. Naye bagambe nti: ‘Ennaku zinaatera okutuuka, ekyalagibwa mu kulabikirwa kituukirizibwe. Kubanga mu Yisirayeli tewaliddayo kubaawo kulabikirwa okw'obwereere, wadde obulanzi obw'okubuzaabuza. Nze Mukama, nze nnaayogeranga, era kye ŋŋamba, kinaatuukirizibwanga. Wanaabanga tewakyaliwo kulwa, naye mu kiseera kyammwe, bajeemu mmwe, kye njogera ndikituukiriza.’ Bwe ntyo bwe ŋŋambye, Nze Mukama Afugabyonna.” Era Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, laba, ab'omu nsi ya Yisirayeli bagamba nti by'olaba mu kulabikirwa si bya kutuukirira mu nnaku zino, era ne by'olanga bya mu biseera ebikyali ewala. Kale bagambe nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Mu bye njogedde, tewali kinaayongera kulwawo, naye buli kye njogera, kijja kutuukirira. Bwe ntyo, Nze Mukama, Katonda, bwe ŋŋambye.’ ” Awo Mukama n'ayogera nange n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, langa ovumirire abalanzi b'omu Yisirayeli, abalanga ebyo bo bye beeyiiyiza mu mutima. Bagambe bawulire Nze Mukama kye ŋŋamba.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Zibasanze abo abalanzi abasirusiru, abeeyiiyiza ebyabwe, nga tebalina kye balabye. Mmwe Abayisirayeli, abalanzi bammwe bali ng'ebibe ebiri mu matongo. Tebakuuma bifo ebisenge we byawomoggolwa ebituli, wadde okuddaabiriza ebisenge ebyo basobole okutaasa ab'Eggwanga lya Yisirayeli mu lutalo, olunaku lwa Mukama nga lutuuse. Okulabikirwa kwabwe tekuliiwo, era balanga bya bulimba abo abagamba nti boogera bubaka bwange, Nze Mukama, sso nga nze sibatumye, ne basuubiza abantu nti kye boogedde kijja kutuukirira. Abo mbagamba nti: ‘Tewali kulabikirwa kwe mufunye, ne bye mwogedde bya bulanzi bwa bulimba. Mugamba nti ebyo nze mbyogedde, sso nga sibyogeranga.’ ” Kale Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nga bwe mwogedde ebitaliiwo, era nga bwe mulabye eby'obulimba, kaakano ndi mulabe wammwe. Nja kubonereza abalanzi abo abalaba ebitaliiwo, era abalanga eby'obulimba. Tebaliba mu bantu bange nga bakuŋŋaanye okuteesa, amannya gaabwe tegaliwandiikibwa mu ga ba ggwanga lya Yisirayeli, era tebaliyingira mu nsi ya Yisirayeli. Olwo mulimanya nga Nze Mukama Afugabyonna. Abalanzi abo, mazima bawubisizza abantu bange, nga bagamba nti: ‘Mirembe’, sso nga tewali mirembe. Abantu bwe bazimba ekisenge ekitagumye, abalanzi abo ne bakisiigako langi kinyirire. Abo abakisiigako langi, bagambe nti kijja kugwa. Wajja kutonnya enkuba ey'amaanyi, wagwe n'amayinja ag'omuzira amanene, wakunte ne kibuyaga omungi. Ekisenge bwe kirimala okugwa, balibabuuza nti langi gye mwasiigako egasizza ki?” Kale Mukama Katonda agamba nti: “Nga nzijjudde obusungu n'ekiruyi, ndireeta kibuyaga mungi n'akunta, ne ntonnyesa enkuba efukumuka, erimu n'amayinja ag'omuzira amanene, ne nkimenyerawo ddala ne kivaawo. Bwe ntyo bwe ndimenyerawo ddala ekisenge kye musiizeeko langi, ne nkisuula wansi, omusingi gwakyo ne gusigala nga gweyerudde mu bbanga. Kirigwa, nammwe ne kibazikiriza mwenna. Olwo buli muntu alimanya nga nze Mukama. Bwe ntyo bwe ndimalira obusungu bwange ku kisenge ekyo, ne ku abo abaakisiiga langi, era ndibagamba mmwe nti: ‘Ekisenge tekikyaliwo era n'abo abaakisiiga langi, be balanzi ba Yisirayeli abaalanga ebifa ku Yerusaalemu, nga bwe bafunye okulabikirwa nti kinaaba mirembe nga sso tewali mirembe.’ Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.” “Kale, ggwe omuntu, kyukira abakazi abo ab'omu bantu bo, abeeyiiyiza bye balanga, olange ng'obavumirira. Ogambe nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba nti: Zibasanze mmwe abakazi abatungira buli muntu ensiriba ez'okwesiba ku mikono, era abakolera abantu aba buli ngeri ebiwero eby'amalogo okwetimba ku mitwe, basobole okufuga obulamu bw'abalala. Mwagala okuba n'obuyinza okukola kye mwagala ku bulamu bw'abantu bange, mmwe mwewonye okufa? Mummalamu ekitiibwa mu maaso g'abantu, nga munoonya okwefunira embatu za bbaale n'ebitundu by'emigaati, nga mutta abantu abatagwanira kufa, ne muwonya abo abatagwanira kuba balamu, ne mulimba abantu bange abawuliriza eby'obulimba.’ ” Kale nno Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndi mulabe wa nsiriba ezo ze mukozesa okutawaanya obulamu bw'abantu, era n'okutta, era ndizisika ne nziggya ku mikono gyammwe, ne nta abo be mubadde mutigomya. N'ebiwero byammwe ebyo eby'amalogo ndibiyuza, ne nzigya abantu bange mu mikono gyammwe, ne bawona okuyiggibwa. Olwo mulimanya nga Nze Mukama. Kubanga mu bulimba bwammwe, munakuwaza abantu abalungi, nze be saagadde kunakuwaza, ne munyweza ababi baleme kukyuka okuva mu bibi byabwe, bawonye obulamu bwabwe. Kale kaakano okulabikirwa kwammwe okutaliiwo, n'okulanga kwammwe okw'okubuzaabuza, biweddewo. Nja kuwonya abantu bange mbaggye mu buyinza bwammwe, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.” Awo abamu ku bakulembeze ba Yisirayeli ne bajja gye ndi okunneebuuzaako, ne batuula mu maaso gange. Awo Mukama n'ayogera nange, n'agamba nti: “Ggwe omuntu, abasajja abo emitima gyabwe bagimalidde ku kusinza ebitali Nze Katonda, ne bibaleetera okukola ebibi. Nnyinza ntya okubaleka babeeko kye banneebuuzaako? Kale yogera nabo, obategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba nti: ‘Buli wa ggwanga lya Yisirayeli amalira omutima gwe mu kusinza ebitali Nze Katonda, ne yeereetera okukola ebibi, n'ajja okwebuuza ku mulanzi, Nze Mukama ndimuddamu mu ngeri esaanira obungi bw'ebyo ebitali Katonda bye yeemaliddeko, ndyoke neddize ab'eggwanga lya Yisirayeli bonna abaneggyeeko, ne beemalira ku ebyo ebitali Nze Katonda.’ “Kale kaakano tegeeza Abayisirayeli nti Nze Mukama Katonda mbagamba nti: ‘Mukyuke mudde, muve ku bitali Nze Katonda, era muve ku ebyo byonna ebyenyinyalwa bye mwemaliddeko.’ Kubanga buli Muyisirayeli oba ow'eggwanga eddala abeera mu Yisirayeli, anneggyako n'amalira omutima gwe ku bitali Nze Katonda, ne yeereetera okukola ebibi, n'ajja eri omulanzi okunneebuuzaako, Nze Mukama ndimuddamu Nze nzennyini. Ndimukyukira ne mmufuula akabonero ak'okulabirako, era olugero. Ndimuggyawo mu bantu bange, mulyoke mutegeere nga Nze Mukama. “Omulanzi singa alimbibwa, n'abaako by'ayogera, nze Mukama, nze mba nnimbye omulanzi oyo, era ndimuggyawo mu bantu bange Abayisirayeli. Omulanzi n'oyo amwebuuzaako, bombi balibonerezebwa olw'ekibi kyabwe. Ekibonerezo ky'omulanzi kiriba kye kimu n'eky'oyo amwebuuzaako. Ekyo ndikikola, ab'eggwanga lya Yisirayeli baleme kuddamu kunvaako, n'okweyonoona nga bakola ebibi, naye babeerenga bantu bange, nze mbenga Katonda waabwe.” Mukama bw'atyo bw'agamba. Awo Mukama n'ayogera nange, n'agamba nti: “Ggwe omuntu, ensi bw'ekola ebibi n'ennyiiza, ndigolola omukono gwange ne ngibonereza, ne ngimma emmere gye yeetaaga. Ndigireetamu enjala, ne ngimalamu abantu era n'ensolo. Abantu abo abasatu: Noowa, ne Daniyeli ne Yobu, ne bwe bandibadde bali mu yo, bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw'obulungi bwabwe.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba. “Singa mpisa ensolo enkambwe mu nsi ne zigyonoona, n'efuuka ensiko nga tekyayinza kuyitibwamu bantu olw'okutya ensolo ezo, abasajja abo bonsatule ne bwe bandibadde nga bali omwo, Nze Mukama ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe. Bandyewonyezza bokka, naye ensi n'ezika. “Oba singa ndeeta olutalo mu nsi, ne ndagira nti lutte era lumalewo abantu n'ensolo, abasatu abo ne bwe bandibadde mu nsi eyo, Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe, wabula bo bennyini be bandiwonyeewo bokka olw'obulungi bwabwe. “Oba singa nsindika kawumpuli mu nsi nga ngisunguwalidde, okuttamu n'okumalamu abantu n'ensolo, Noowa ne Daniyeli ne Yobu ne bwe bandibadde nga bali omwo, Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, tebandiwonyezza wadde abaana abaabwe. Bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw'obulungi bwabwe.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Kale tekirisingawo obubi bwe ndisindika ku Yerusaalemu ebibonerezo byange ebina ebisingayo obukambwe: olutalo, n'enjala, n'ensolo enkambwe ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo? Naye walibaawo abatonotono abaliwonawo, bo n'abaana baabwe. Abo bwe balivaayo ne bajja gye muli, muliraba emize gyabwe n'ebibi bye bakola, ne mumanya ng'ekibonerezo kye mpadde Yerusaalemu kisaanidde. Olwo mulikakasa nga nalina ensonga entuufu okukituusaako ebyo byonna bye nakola mu kyo.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba. Awo Mukama n'ayogera nange n'agamba nti: “Ggwe omuntu, omuzabbibu olina bw'ogugeraageranya n'omuti, oba n'ettabi lyonna, ery'omuti ogw'omu kibira? Omuzabbibu bayinza okuguggyako emiti ne babaako kye bagibajjamu? Oba bayinza okuggyako wadde enkondo okubaako kye bagiwanikako? Bayinza kugukumisa bukumisa muliro. Era bwe gumala okwokebwa gye gusemba erudda n'erudda, era nga ne wakati guyidde, olina eky'omugaso ky'oyinza okugukolamu? Oba nga tegwaliko kye gugasa nga gukyali mulamba, kale omuliro nga gumaze okugwokya ne guggya, lwe gunaaba n'omugaso?” Kale Mukama Afugabyonna kyava agamba nti: “Nga bwe mpaayo omuzabbibu oguggyibwa mu miti egy'omu kibira okukumisa omuliro, bwe ntyo bwe ndiwaayo abantu ababeera mu Yerusaalemu, ne mbabonereza. Ne bwe balidduka omuliro, era gulibookya. Bwe ndibabonereza, kale mulimanya nga Nze Mukama. Ndizisa ensi, kubanga abantu baamu bagaanye okuba abeesigwa.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba. Awo Mukama era n'ayogera nange, n'agamba nti: “Ggwe omuntu, manyisa Yerusaalemu ebyenyinyalwa bye kikola, okigambe nti: ‘Mukama Afugabyonna akugamba ggwe Yerusaalemu nti wazaalibwa era osibuka mu nsi y'e Kanaani. Kitaawo yali Mwamori, ne nnyoko yali Muhiiti. Bwe wazaalibwa, tewasalibwa kalira, era tewanaazibwa na mazzi kukutukuza. Tebaakusiiga munnyo, wadde okukubikkako obugoye. Tewali yakukwatirwa kisa kukukolako wadde ekimu ku ebyo byonna. Bwe wazaalibwa tewali yakwagala. Wasuulibwa bweru mu ttale. “ ‘Nze bwe nali mpitawo, ne nkulaba ng'osambagalira mu musaayi gwo. Ng'okyali mu musaayi gwo ogwo, ne nkugamba nti sijja kukuleka kufa, ba mulamu. Ne nkulabirira n'okula ng'ekimera eky'omu nnimiro. N'osuumuka, n'okulira ddala n'ofuuka muwala mukulu, omuyonjo ennyo. N'osuna amabeere, n'okuza enviiri, naye ng'oli bwereere, toyambadde. “ ‘Era bwe nali nga mpitawo ne nkulaba ng'otuusizza ekiseera eky'okwogerezebwamu, ne nkubikkako omunagiro gwange oleme kusigala ng'oli bwereere. Weewaawo nakola naawe endagaano ey'okufumbiriganwa, n'ofuuka wange.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. “Awo ne nkunaaza n'amazzi, ne nkumalirako ddala omusaayi gwo, ne nkusiiga omuzigo, ne nkwambaza engoye ezirukiddwa obulungi, ne nkunaanika engatto ez'amaliba agasinga obulungi, ne nkubikkirira olugoye olw'ebbeeyi, ne nkusiba ekitambaala ekirungi ennyo. Ne nkwambaza amatiribona agakuwoomya: obukomo ku mikono, n'omukuufu mu bulago. Ne nkuteekako empeta ey'oku nnyindo, n'eby'oku matu ne nkutikkira n'engule ennungi ku mutwe. Bwe wamala okuweebwa ebikuwoomesa ebya zaabu ne ffeeza, n'ebyambalo byo eby'engoye ezisingirayo ddala obulungi, n'olyanga emmere esinga obulungi, okuli n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo ogw'emizayiti, leero n'olungiwa n'okamala, n'onyirira nga muka kabaka. N'oba wa ttutumu mu mawanga gonna olw'obulungi bw'endabika yo, obwali busukkiridde olw'ebyo bye nakukolako.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. “Naye ggwe weeyinula obulungi bwo n'ettutumu lyo, n'okola obwamalaaya, n'okabawaliranga ku buli muntu ayitawo. Watoola ku byambalo byo, okutimba ebifo byo ebigulumivu eby'okusinzizaamu, bw'otyo n'okolerayo obwamalaaya mu ngeri etebangawo era eteriddamu kubaawo ng'osinza ebyo byonna, ebitali Nze Katonda. Waddira ebirungi eby'okwewoomya ebya zaabu n'ebya ffeeza bye nakuwa, ne weekoleramu ebifaananyi eby'abasajja, n'ogenda nabyo n'obisinza, nze kye mbala nti wayenda nabyo. N'otwala engoye ezirukiddwa obulungi, ze nakuwa, n'obikka ebifaananyi ebyo, n'obitonera n'omuzigo n'obubaane bwange. Ebyokulya bye nakuwa okulyangako: obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, omuzigo ogw'emizayiti, n'omubisi gw'enjuki, wabitoola obiwengayo bibe ekiweebwayo ebiwunyira ebifaananyi ebyo akaloosa.” Mukama Katonda bw'agamba bw'atyo. “ ‘Era watoola abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala be wanzaalira, n'obawaayo babe ebitambiro eri ebifaananyi ebyo. Obutali bwesigwa bwo obwo walaba nga kintu kitono, olyoke ogatteko n'okutta abaana bange ng'obayisa mu muliro okubatambirira ebifaananyi ebyo? Mu kukola ebyenyinyalwa n'eby'obwamalaaya bwo, ebyo byonna, tewajjukira nnaku za mu buto bwo, bwe wali obwereere, nga tewali k'obikkiddwako, era ng'osambagalira mu musaayi gwo.’ ” Mukama Katonda agamba nti: “Zikusanze, zikusanze! Bwe wamala okukola ebibi ebyo byonna, n'oyongerako n'okwezimbira ku mabbali ga buli luguudo, ebifo ebigulumivu eby'okusinzizaamu ebitali Nze Katonda, n'okukoleramu obwamalaaya. Ozimbye ebifo ebyo buli luguudo we lutandikira, n'ojaajaamiza omwo obulungi bwo, amagulu go n'oganjululiza buli ayitawo, ne weeyongera okuba malaaya. Era oyenze ne ku Bamisiri baliraanwa bo abalina amaddu g'omubiri amangi, ne weeyongera mu bwamalaaya, okunsunguwaza. “Kale kaakano ngolodde omukono gwange okukubonereza, era nkendeezezza ku mugabo gwo, ne nkuwaayo eri abakukyawa bakukoleko kye baagala, be Bafilistiya abo, abakwatibwa ensonyi olw'ebikolwa byo eby'obukaba. “Oyenze ne ku Bassiriya, kubanga toyinza kumatira. Ddala oyenze ku bo, naye era nabo ne batakumatiza. Ne weeyongera okukola obwamalaaya mu Bukaludaaya, ensi y'abasuubuzi, era n'osigala nga tomatidde.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Omutima gwo nga mukaba nnyo, n'okola ebyo byonna ebikolebwa omukazi malaaya kaggwensonyi! Kubanga ozimba buli luguudo we lutandikira ebifo ebigulumivu eby'okusinzizaamu ebitali Nze Katonda, okoleremu obwamalaaya. Sso nno nga tonoonya nsimbi ng'omukazi malaaya eyeetunda. Oli mukazi mwenzi, alekerera okwagala bba, n'ayenda ku basajja abalala. Mu nkola eyaabulijjo, abasajja be bawa bamalaaya ebirabo, naye ggwe, ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo, n'obagulirira olw'obwenzi bwo, bajje gy'oli okuva mu njuyi zonna. Oli wanjawulo ku bakazi abalala abenzi, kabanga tewali akuwaliriza ggwe okwenda, wabula ggwe ogulirira abasajja, sso si bo kukusasula, kyova obeera malaaya owenjawulo!” Kale ggwe Yerusaalemu omwenzi, wulira Mukama ky'agamba. Mukama Afugabyonna agamba nti: “Weeyambulamu engoye era olw'obwenzi bwo ne weewa baganzi bo, n'ebifaananyi ebyenyinyalwa by'osinza era bye watambirira abaana bo. Olw'ebyo, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa. Ndikwambulamu engoye zo bakulabe ng'oli bwereere. Ndikusalira omusango gwe basalira abakazi aboonoona obufumbo, ne batta n'abantu, ne nkuwa ekibonerezo eky'okuttibwa, nga nzijudde obusungu n'ekiruyi. Ndikuwaayo mu mikono gyabwe, era balimenya amayumba go agagulumidde, balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu by'osinzizaamu ebitali Nze Katonda. Balikwambulamu engoye zo, ne banyaga eby'okwewoomya by'olina ebirungi, ne bakuleka ng'oli bwereere, toliiko k'obikkiddwako. “Balireeta ebbiina ly'abantu ne likukuba amayinja, ne bakufumitira ddala n'ebitala byabwe. Balyokya amayumba go omuliro, ne bakubonereza ng'abakazi bangi balaba. Ndikulesaayo obwenzi, n'olekera awo n'okusasula baganzi bo omusaala. Bwe ntyo bwe ndikumalirako ekiruyi kyange kye mpulira olw'okukububira, ne ntereera, ne siddamu kukusunguwalira. Olw'okwerabira bye nakukolera mu buto bwo, n'onnyiiza mu bino byonna, kyendiva mbikuvunaana. Wakola bubi nnyo okugatta obwenzi ku byenyinyalwa byonna bye wakola!” Ebyo Mukama Afugabyonna ye abyogera. Mukama agamba nti: “Abantu balikugerako olugero luno, ggwe Yerusaalemu nti: ‘Omuwala ne nnyina be bamu.’ Ddala oli muwala wa nnyoko, eyatamwa bba n'abaana be. Era oli nga baganda bo, abaakyawa babbaabwe n'abaana baabwe. Nnyammwe yali Muhiiti, ne kitammwe yali Mwamori. Mukulu wo ye Samariya akuli mu bukiikakkono, wamu n'obubuga bwe. Muto wo akuli mu bukiikaddyo n'obubuga bwe, ye Sodoma. Tekyakumala okweyisa nga bo, n'okukola ebyenyinyalwa nga bo, naye mu kaseera mpawekaaga, wayonooneka okusinga bo mu byonna by'okola.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndayira nti nga bwe ndi omulamu, muganda wo Sodoma n'obubuga bwe, tebaakola nga ggwe n'obubuga bwo bye mukoze. Muganda wo Sodoma n'obubuga bwe, ekibi abaamu kye baakola kyali kya kwekulumbaza kubanga baalina emmere nnyingi, n'emirembe nga beebaka ne beegolola, naye ne batafa ku baavu n'abali mu bwetaavu. Era baalina olwetumbu ne bakola bye nkyawa, kyennava mbasaanyaawo nga ndabye ebyo. “N'ab'e Samariya tebaakola wadde ekimu ekyokubiri eky'ebibi byo. Okoze ebyenyinyalwa bingi okusinga bye baali bakoze. Ebibi byonna bye wakola bw'obigeraageranya n'ebya baganda bo, bo balabika ng'abatalina musango. Kaakano ojja kugumira ensonyi zo. Ebibi byo byenyinyalwa okusinga ebya baganda bo, ne balabika nga balungi okukusinga. Kaakati swala ofe ensonyi, kubanga olaze nti bo baganda bo balungi.” Mukama n'agamba Yerusaalemu nti: “Ndikomyawo abantu baabwe okuva mu buwaŋŋanguse: aba Sodoma n'obubuga bwakyo, n'aba Samariya n'obubuga bwakyo. N'ababo ndibakomyawo wamu nabo. Olikwatibwa ensonyi n'oswala olw'ebyo byonna bye wakola, ebiraga nti bo baganda bo bali bulungi. Baganda bo Sodoma ne Samariya n'obubuga bwabyo baliddawo mu mbeera yaabwe ey'edda, era naawe wamu n'obubuga bwo, oliddawo mu mbeera yo ey'edda. Kubanga muganda wo Sodoma tewayogeranga ng'omunyooma mu biseera bye weekulizangamu, ebibi byo nga tebinnamanyika? Kaakano naawe Abeedomu n'Abafilistiya n'abalala bonna abakukyawa abakwetoolodde, bakuyisaamu emimwa. N'olwekyo osaanye okugumira ebiva mu by'ensonyi ne mu byenyinyalwa bye wakola.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba. Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nja kukuyisa nga bw'osaanidde ggwe, anyooma kye weeyama, n'omenya endagaano. Wabula nze ndikuuma endagaano gye nakola naawe ng'okyali muto, era ndikola naawe endagaano ey'olubeerera. Bw'oliddizibwa baganda bo, mukulu wo ne muto wo, olikwatibwa ensonyi olw'ebyo bye wakola. Ndibakuwa ne baba nga bawala bo, newaakubadde ng'ekyo tekiri mu ndagaano gye nkoze naawe. Ndikuuma endagaano gye nkoze naawe, n'omanya nga nze Mukama. Ndikusonyiwa byonna bye wakola, olibijjukira n'okwatibwa ensonyi, n'olemwa n'okubaako ky'oyogera olw'okuswala.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba. Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, buulira Abayisirayeli olugero luno, bamanye Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba: Empungu ennene, erina ebyoya ebingi ebya langi ennyingi, erina n'ebiwaawaatiro ebinene era ebiwanvu, yajja ku lusozi Lebanooni, n'eggyayo akatabi akasembayo waggulu ku mutwe gw'omuvule. N'ekatwala mu nsi erimu obusuubuzi, n'ekasimba mu kibuga ky'abasuubuzi. Era n'etwala n'akalokwa k'omuzabbibu ogw'omu nsi Yisirayeli, n'ekasimba mu ttaka eggimu awali amazzi amangi agaakayamba okukula. Ne kakwata bulungi, ne kavaamu omuzabbibu ogukulira wansinsi, ne gulanda, ne gwagaagala. Amatabi gaagwo ne gatunula waggulu empungu eyo gy'eri, emirandira ne gisimba wansi mu ttaka. Omuzabbibu ne guleeta amatabi, ne gujjula amakoola. “Waaliwo n'empungu ennene endala, ng'erina ebiwaawaatiro binene n'ebyoya bingi. Awo olwatuuka, omuzabbibu ogwo ne guweta emirandira gyagwo okugiggya mu nnimiro mwe gwasimbibwa, okugizza empungu eyo endala gy'eri. Ne gukyusa n'amatabi gaagwo okugatunuza gy'eri egufukirirenga amazzi, sso nga gwali gusimbiddwa mu ttaka ddungi awali amazzi amangi, gusuule amatabi era gubale ebibala, gubeere nga omuzabbibu omulungi. “Bagambe nti: ‘Mukama Afugabyonna abuuza nti omuzabbibu ogwo guliba bulungi? Empungu eyagusimba terigukuulayo n'emirandira gyagwo, n'esalako ebibala byagwo, n'amatabi gaagwo, amakoola gaagwo gonna amabisi gawotoke? Tekiryetaagisa na maanyi mangi, wadde abantu abangi okugukuulayo n'emirandira gyagwo. Ogwo gw'olaba, bwe gusimbibwa guyinza okudda obulungi? Teguukalire ddala nga gufuuyiddwako empewo z'ebuvanjuba? Gulikalira mu nnimiro mwe gusimbiddwa okukulira.’ ” Era Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Buuza abantu b'eggwanga lino ejjeemu, oba nga bategeera amakulu g'olugero luno. Babuulire nti Kabaka w'e Babilooniya yajja e Yerusaalemu n'awamba Kabaka waayo n'abakungu baayo, n'agenda nabo, n'addayo e Babilooniya. N'atwala omu ku b'olulyo olulangira, n'akola naye endagaano, era n'amulayiza okuba omwesigwa gy'ali. N'aggyayo abantu ab'amaanyi ab'omu nsi eyo, obwakabaka obwo bukkakkane buleme okwegugunga, naye bukuume endagaano busobole okunywera. Kyokka Kabaka wa Buyudaaya n'ajeema, n'atuma ababaka be mu Misiri, okufunayo embalaasi n'eggye eddene. Kabaka oyo aliba bulungi? Omuntu akola ebiri ng'ebyo ayinza okuwona? Ayinza okumenya endagaano, n'atabonerezebwa?” Mukama agamba nti: “Ndayira nti nga bwe ndi omulamu, kabaka oyo alifiira Babilooniya, kubanga yamenya endagaano gye yakola ne Kabaka w'e Babilooniya eyamuteeka ku ntebe y'obwakabaka. Era ne kabaka w'e Misiri, n'eggye lye ery'amaanyi ery'abaserikale be abangi, talisobola kumuyamba mu lutalo, ab'e Babilooniya bwe balituuma ebbibiro, ne bazimba ebigo okuzikiriza abantu bangi. Taliwona kubanga yanyooma ekirayiro ye yennyini kye yakola, n'amenya endagaano ey'okuba omwesigwa, n'akola ebyo byonna.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Mazima ndayira nti nga bwe ndi omulamu, ndimubonereza olw'okumenya endagaano gye yakola ng'alayira erinnya lyange nti aligituukiriza. Ndimutega ne mmukwasa mu kitimba kyange, ne mmutwala e Babilooniya, ne mmubonerereza eyo, kubanga yagaana, okuba omwesigwa gye ndi. Ab'omu magye ge abadduka, balittirwa mu lutalo, n'abo abalisigalawo balibuna emiwabo. Olwo mulimanya nga nze Mukama.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nditwala akatabi akato akasembayo waggulu ku mutwe gw'omuvule, ne nkasimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu. Ku lusozi lwa Yisirayeli olusingira ddala obuwanvu kwe ndikasimba, kakule kasuule amatabi era kabale ebibala, kafuuke omuti amakula; ebinyonyi ebya buli ngeri bijje byewogomenga mu kisiikirize ky'amatabi gaagwo. Emiti gyonna egy'omu ttale gimanye nga Nze Mukama mpeta emiti emiwanvu, ne mpanvuya emimpi. Era nkaza omuti omubisi ne ntojjeza omuti omukalu. Nze Mukama, nze njogedde, era kye njogedde, nkikoze.” Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Mubadde mutya abagera olugero luno mu nsi ya Yisirayeli nga mugamba nti: ‘Abazadde baalya enkenene ezikambagga, amannyo g'abaana ne ganyenyeera?’ Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga Nze bwe ndi omulamu, mpeze olugero olwo, temuliddayo kulukozesa mu Yisirayeli. Nze nfuga obulamu bwa buli muntu, obw'omuzadde n'obw'omwana. Oyo anaakolanga ekibi ye anaafanga. “Omuntu omulungi ye oyo atuukiriza by'alagirwa okukola. Tasinza bitali Nze Katonda, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bye basinza, wadde okuliira ku nsozi ebyo bye babitambirira. Tasigula muka munne, era teyeebaka na mukazi ali mu biseera bye ebya buli mwezi. Talyazaamaanya muntu n'omu, era tabaako gw'anyagako bibye. Omuntu amwewolako amuddiza omusingo gwe. Abayala abawa ebyokulya, n'abali obwereere abawa ebyokwambala. Tawola lwa kufunamu magoba na kwegaggawaza. Takkiriza kukola kibi, era asala emisango gy'abantu mu bwenkanya. Akwata amateeka gange, era atuukiriza bye nalagira. Oyo ye muntu omulungi, era talirema kuba mulamu.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. “Naye omuntu oyo, omwana we ayinza okuba omwana omunyazi era omutemu, era atatuukiriza by'agwanidde kukola, wabula aliira mu bifo eby'oku nsozi ebyawerebwa, era asigula baka banne. Omwana ayinza okulyazaamaanya abaavu n'abali mu bwetaavu, omuntu amwewolako n'atamuddiza musingo gwe, n'agenda mu masabo, n'asinza ebyo ebitali Nze Katonda, era n'akola ebyenyinyalwa, n'awola ensimbi olw'okufuna amagoba n'okwegaggawaza. Oyo aliba mulamu? Nedda, taliba mulamu. Akoze ebyenyinyalwa ebyo byonna, talirema kufa, nga ye yennyini ye yeereetedde okufa okwo. “Naye ka tugambe nti ow'engeri eyo alina omwana, omwana n'alaba ebibi kitaawe by'akola, wabula n'atya, ye n'atabikola: n'atasinza bitali Nze Katonda, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bye basinza, era n'ataliira ku nsozi bye babitambirira; n'atasigula muka munne, wadde okubaako gw'alyazaamaanya; n'atabaako musingo gw'atwala wadde okubaako ky'anyaga olw'amaanyi, kyokka n'agabiranga abayala emmere, n'abali obwereere n'abawanga ebyokwambala. Ne yeewala okuyisa obubi abaavu, era n'atakkiriza kuwola lwa kufuna magoba na kwegaggawaza; n'akwata amateeka gange era n'atuukiriza bye ndagira, oyo talifa lwa bibi bya kitaawe, wabula ddala aliba mulamu. Kitaawe nga bwe yayisa obubi, era n'anyaga bantu banne n'obukambwe, n'akola ebyo ebitali birungi mu banne, oyo alifiira mu bibi bye. “Naye mwebuuza nti: ‘Omwana lwaki tavunaanibwa bibi bya kitaawe?’ Omwana bw'aba ng'akoze ebituufu by'agwanira okukola, era ng'akutte amateeka gange gonna n'agatuukiriza, talirema kuba mulamu. Omuntu akola ebibi ye alifa. Omwana taavunaanibwenga lwa bibi bya muzadde we, n'omuzadde taavunaanibwenga lwa bibi bya mwana we. Omuntu omulungi anaaweebwanga empeera olw'ebirungi by'akola, n'omwonoonyi anaavunaanibwanga olw'ebibi bye. “Naye omuntu omubi bw'anaakyukanga n'alekayo ebibi bye byonna bye yakola, n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebituufu bye ndagira, talifa, mazima aliba mulamu. Ebibi bye byonna bye yakola birimusonyiyibwa, n'aba mulamu, kubanga akoze ebituufu. Mulowooza nga nsanyukira okufa kw'omwonoonyi? Nedda, wabula njagala yeenenye, abe mulamu.” Mukama Katonda bw'atyo bw'agamba. “Kyokka omuntu omulungi bw'akyuka n'alekayo okuba omulungi, n'akola ebibi, era ebyenyinyalwa byonna, abantu ababi bye bakola, aliba mulamu? Nedda, tewali na kimu ku bikolwa bye ebirungi bye yakola, ekirijjukirwa. Alifa olw'obutakuuma bwesigwa, n'olw'ebibi by'akoze. “Naye mmwe mugamba nti: ‘Mukama ky'akola si kya bwenkanya.’ Muwulire mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli. Kye nkola si kya bwenkanya? Enkola yammwe ye eteri ya bwenkanya. Omuntu omulungi bw'akyuka n'alekayo okuba omulungi, n'akola ebibi, n'afiira mu byo, aba afudde lwa bibi bye by'akoze. Naye omubi bw'akyuka, n'aleka ebibi by'akoze, n'akola ebyo ebituufu ebyalagirwa, aliwonya obulamu bwe, kubanga aba yeerowoozezza n'alekayo ebibi bye byonna by'akoze. N'olwekyo talifa, wabula aliba mulamu. Naye mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli ne mugamba nti: ‘Mukama ky'akola si kya bwenkanya?’ Yii, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, kye nkola kye kitali kya bwenkanya? Nedda. Enkola eyammwe ye eteri ya bwenkanya. “Kale Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti ndisalira buli omu ku mmwe omusango nga nsinziira ku by'akoze. Mukyuke, muve mu bibi byammwe byonna, ebibi byammwe ebyo bireme kubazikiriza. Mweggyeeko ebibi byammwe byonna bye mukoze, mufune omutima omuggya n'omwoyo omuggya. Mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, lwaki mwagala okufa? Nze sisanyukira n'omu kufa. Kale mukyuke muve mu bibi byammwe, mube balamu.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Mukama n'aŋŋamba nti: “Kati tandika okukungubagira abakungu ba Yisirayeli, ogambe nti: ‘Nnyoko yali ng'empologoma enkazi ey'amaanyi mu mpologoma ensajja. Yayonseza abaana baayo wakati mu mpologoma envubuka, n'ekuza omu ku bo n'aba empologoma envubuka, n'eyiga okuyigga, n'etandika okulya abantu. Amawanga ne gagikubira enduulu ne gagikwasa mu bunnya ne bagisika n'amalobo ne bagitwala mu nsi y'e Misiri. Nnyina waayo n'erinda. Yalaba tewakyali ssuubi, n'eyola omwana gwayo omulala ne gufuuka empologoma envubuka. Bwe yakulira ddala, n'ekumbira mu zinnewaayo, n'eyiga okuyigganga wamu n'okulya abantu. Amayumba gaabwe n'egamenya, ebibuga byabwe n'ebizisa. Ng'ewulugumye, ne batya, ne baleka ttayo ebyabwe. Ensi eyo ne bagiddukamu. Amawanga ne gakuŋŋaana, ne gagitaayiza wonna n'etegebwa ebitimba, ne bagikwasa mu bunnya. Ne bagisika n'amalobo ne bagisibira mu kiyumba, ne bagitwalira kabaka w'e Babilooni. Ne bagikuumira mu kigo, okuwuluguma kwayo baleme kuddayo kukuwulira mu nsozi za Yisirayeli. Nnyoko yali ng'omuzabbibu ogusimbiddwa mu nnimiro, okumpi n'awali amazzi ne gujjula obutabitabi obutabala. Mu matabi gaagwo amagumu, ne mutemwa emiggo egy'obwakabaka ne gikwatibwa abafuzi. Omuzabbibu ne guwanvuwa ne gugulumira amatabi, ne galengerwa amangi bwe gaziyidde amakoola. Naye ne gukuulibwayo abo abagulinako ekiruyi, ne gusuulibwa wansi. Empewo z'ebuvanjuba zajja ne zigukaza ebibala. Ne guwogolwa amatabi, ne guwotoka ne bagwokya. Kaakano gusimbiddwa mu nsi enkalu ey'eddungu. Omuliro guvudde mu muggo ogwatemwa mu matabi agaagwo, ne gwokya ebibala byagwo. Tekukyali matabi magumu mutemwa miggo gya bwakabaka.’ Luno lwe luyimba olw'okukungubaga olunaayimbibwanga bulijjo.” Awo olwatuuka, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw'omusanvu nga tuli mu buwaŋŋanguse, abamu ku bakulembeze b'Abayisirayeli ne bajja okwebuuza ku Mukama, ne batuula mu maaso gange. Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, yogera n'abakulembeze b'Abayisirayeli obategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Muzze okunneebuuzaako? Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, sijja kubakkiriza mmwe kunneebuuzaako. Nze Mukama Afugabyonna, bwe ntyo bwe ŋŋamba.’ “Onoobasalira omusango, ggwe omuntu? Kale bajjukize ebyenyinyalwa, bajjajjaabwe bye baakola. Bategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna mbagamba nti bwe neeroboza Yisirayeli, nalayirira ab'Eggwanga lya Yakobo eryo. Nabeemanyisiza mu nsi y'e Misiri, ne mbagamba nti nze Mukama, Katonda wammwe. Ku olwo, lwe nabalayirira okubaggya mu nsi y'e Misiri okubatwala mu nsi gye nali mbategekedde, engimu era engagga, esinga ensi endala zonna ekitiibwa. Nabagamba basuule ebintu ebyenyinyalwa ebibasikiriza, era baleme kwejaajaamya na bifaananyi bya balubaale b'e Misiri, kubanga Nze Mukama, Nze Katonda waabwe. Naye ne banjeemera, ne bagaana okuwulira bye mbagamba, ne batasuula bintu ebyenyinyalwa ebibasikiriza, wadde okuleka ebifaananyi bya balubaale b'e Misiri. Kale ne nteekateeka okubamalirako obusungu bwange eyo mu nsi y'e Misiri. Naye ne sikola ekyo, kubanga kyandivumaganyizza erinnya lyange mu mawanga mwe baali, mwe nabamanyisiza nti nja kubaggya mu nsi y'e Misiri. “Awo ne mbaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbatwala mu ddungu. Ne mbawa ebiragiro byange, ne mbayigiriza amateeka gange, omuntu nga bw'agatuukiriza, gamuwa obulamu. Era nabateerawo okumanya Sabbaato, kabe akabonero k'endagaano wakati wange nabo, balyoke bamanye nga nze Mukama abatukuza. Naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli ne banjeemera ne mu ddungu. Ne bamenya amateeka gange, ne bagaana okukola bye ndagira, ebiwa obulamu ababituukiriza. Ne boonoona nnyo Sabbaato gye nabateerawo. Kale ne nteekateeka okubamalirako obusungu bwange mu ddungu okubamalawo. Naye ne nkola ekigwanira erinnya lyange, lireme okuvumaganibwa mu mawanga agaalaba bwe mbaggya mu Misiri. Ne mbalayirira mu ddungu nga sigenda kubatwala mu nsi gye nali mbawadde, engimu era engagga, esinga ensi endala zonna ekitiibwa, kubanga baagaana ebiragiro byange, ne batakwata mateeka gange, ne boonoonanga Sabbaato gye nabateerawo, ng'omutima bagumalidde ku bifaananyi bya balubaale. “Naye ne mbakwatirwa ekisa ne sibazikiririza mu ddungu kubamalirawo ddala. Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti: Temukolera ku mateeka bajjajjammwe ge baateekawo, temukwata mpisa zaabwe, era temweyonoona nga musinza ebifaananyi bya balubaale bye baasinzanga. Nze Mukama Katonda wammwe, mukwatenga amateeka gange, mukolenga bye ndagira. Olwa Sabbaato mulukuumenga nga lunaku lutukuvu, lubenga akabonero akalaga endagaano gye nakola nammwe, era lubajjukizenga nga Nze Mukama Katonda wammwe. “Naye n'abaana ne banjeemera. Ne batakwata mateeka gange, era ne batakola bye mbalagira, ebiwa obulamu omuntu abikola. Baayonoonanga Sabbaato gye nabateerawo. Kale ne ŋŋamba okubamalirako obusungu bwange mbasaanyeewo nga bali mu ddungu. Naye ne sikikola, nneme okuvumaganya erinnya lyange mu mawanga agaalaba nga bwe nabaggya mu Misiri. Ne nziramu okubalayirira mu ddungu nga ndibasaasaanya mu mawanga, mbabunye mu nsi nnyingi, kubanga baali tebakoze bye mbalagira, nga bagaanye amateeka gange, era nga bajaajaamizza Sabbaato gye nabateerawo, era ng'omutima bagumalidde ku bifaananyi bya balubaale, bajjajjaabwe bye baasinzanga. “Awo ne mbaleka bagoberere amateeka agatali malungi, n'ebiragiro mwe batagenda kufunira bulamu. Ne mbaleka beejaajaamye nga bawaayo ebirabo eri ebifaananyi bya balubaale, kubanga baatambiranga abaana baabwe abaggulanda nga babookya, ndyoke mbabonereze mbalage nga Nze Mukama. “Kale kaakano, ggwe omuntu, yogera n'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, obategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba, nti era eno ye emu ku ngeri bajjajjammwe mwe banvumiranga, nga bagaana okuba abeesigwa. Kubanga bwe nabaleeta mu nsi gye nneerayirira okubawa, ne balaba obusozi obuwanvu n'emiti emiziyivu, ne baweeranga eyo ebitambiro byabwe. Ne bansunguwaza olw'ebyo bye baaweerangayo, n'ebyakaloosa bye baayoterezangayo, n'ebiweebwayo ebyokunywa bye baayiwangayo. Ne mbabuuza nti: ‘Kifo ki ekyo ekigulumivu gye mugenda bulijjo okusinziza?’ Okuva olwo ne kiyitibwanga Ekifo Ekigulumivu kye Basinzizaamu. Kale kaakano tegeeza ab'Eggwanga lya Yisirayeli, nze Mukama Katonda kye mbagamba nti: ‘Nammwe mwagala kweyonoona nga bajjajjammwe, nga mugoberera emize gyabwe egy'obutaba beesigwa? Bwe muwaayo ebirabo byammwe, ne mutambira abaana bammwe be mwokya, nammwe mwejaajaamya olw'okusinza ebifaananyi bya balubaale. Kale mmwe ab'eggwanga lya Yisirayeli, olwo nnyinza ntya okubakkiriza munneebuuzeeko? Nze Mukama Katonda ndayira nti nga bwe ndi omulamu, sijja kubakkiriza kunneebuuzaako. N'ekyo kye mulowooza ne mugamba nti munaabeera ng'ab'amawanga amalala, ng'abantu ab'omu nsi endala, ne musinza emiti n'amayinja, tekijja kubaawo n'akatono.’ ” Mukama Katonda agamba nti: “Nze ndayira nti nga bwe ndi omulamu, mazima ndiba Kabaka wammwe, mbafugenga n'obuyinza obungi, n'amaanyi era n'obusungu, Ndikozesa obuyinza bwange obungi n'amaanyi era n'obusungu, ne mbaggya mu mawanga, era ne mbakomyawo okuva mu nsi ezo mwe mwasaasaanyizibwa. Ndibateeka mu ddungu ly'eyo mu mawanga, mbawozese nga nze nammwe tutunuuliganye maaso ku maaso. Ndibawozesa nga bwe nawozesa bajjajjammwe mu ddungu ly'ensi y'e Misiri.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. “Ndibayisa wansi w'omuggo ne mbabala n'obwegendereza, ne mbayingiza mu ndagaano gye muteekwa okukuuma. Ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abakola ebibi ne bannyiiza. Abo ndibaggya mu nsi ze balimu kaakano, naye siribaleeta mu nsi ya Yisirayeli. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Kale kaakano mmwe Abayisirayeli oba nga temukkiriza kumpulira, buli omu ku mmwe agende abe muweereza w'ebifaananyi bya balubaale by'alina. Naye temuddangamu kujaajaamya linnya lyange ettukuvu nga mumpa ebirabo byammwe, ate ng'erudda musinza ebifaananyi bya balubaale bye mulina. Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi olwo entikko ya Yisirayeli, mwenna mwenna ab'Eggwanga lya Yisirayeli we mufa mwenkana, kwe mulinsinziza mu nsi eyo, Nze Mukama Afugabyonna. Eyo gye ndibasiimira, era ne mbasalira ebiweebwayo bye munandeetera, n'ebibala byammwe ebisooka okukungulwa era n'ebitone byammwe byonna bye mumpongera. Bwe ndimala okubakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga ne mbakomyawo okuva mu nsi ezo mwe mwasaasaanyizibwa, ndisiima ebitambiro byammwe ebyokebwa, era muliraga amawanga nga bwe ndi omutuukirivu. “Bwe ndibatuusa mu Yisirayeli, ensi gye nneerayirira okuwa bajjajjammwe, mulimanya nga Nze Mukama. Olwo mulijjukira emize gyammwe, n'ebikolwa byammwe byonna ebyenyinyalwa bye mwejaajaamyamu, era mulyetamwa mmwe mwennyini olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola. Bwe ndimala okubayisa mu ngeri eweesa erinnya lyange ekitiibwa, sso si mu ngeri egwanira enneeyisa yammwe embi, n'ebikolwa byammwe ebikyamu, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mulimanya nga Nze Mukama.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tunula ebukiikaddyo olaamirize ebirituuka ku bantu baayo, olange ebirituuka ku kibira ky'omu bukiikaddyo. Gamba ekibira eky'omu bukiikaddyo kiwulire, Nze Mukama kye ŋŋamba. Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Laba, ndikuma omuliro mu ggwe, ne gwokya buli muti oguli mu ggwe, omubisi n'omukalu. Ennimi z'omuliro ogwo, tewaliba kiyinza kuzizikiza. Guliranda okuva ebukiikaddyo, okutuuka ebukiikakkono, gwokye buli omu. Abantu bonna baliraba nga Nze Mukama, nze ngukumye. Tewali kiriyinza kuguzikiza.’ ” Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Afugabyonna, banjogerako nti: ‘Ono ayogerera mu ngero!’ ” Awo Mukama n'ayogera nange, n'agamba nti: “Ggwe omuntu, tunula e Yerusaalemu, olaamirize ebirituuka ku bifo bye basinzizaamu, era olange ng'olabula ensi ya Yisirayeli, ogigambe nti Mukama agamba nti: ‘Nfuuse mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala abantu abalungi n'ababi. Olw'okumalirawo ddala mu ggwe abalungi n'ababi, ndisowolayo ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne nnwanyisa abantu bonna okuva ebukiikaddyo okutuuka ebukiikakkono. Abantu bonna balimanya nga Nze Mukama, nsowodde ekitala kyange mu kiraato kyakyo, era sijja kukizzaamu.’ “Kale ggwe omuntu, sinda ng'omuntu alina obuyinike obungi mu mutima, sinda nga bonna balaba. Bwe banaakubuuza nti: ‘Lwaki osinda?’ Obagambe, nti: ‘Nsinda olw'amawulire ge mpulidde, ag'ebyo ebijja. Bwe binaatuuka, buli muntu ajja kwewanika omutima, ayongobere emikono, aggweemu amaanyi, era amaviivi ge gakubagane. Ebyo bijja kubaawo, ddala bijja kutuukirira.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, langa ogambe nti: Mukama agamba nti: ‘Gamba nti: Ekitala! Ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa! Kiwagaddwa kitte, kiziguddwa kimyanse ng'enjota. Kale olwo tunaasanyuka? Abantu bange banyoomye buli kibonerezo n'okulabulwa. Ekitala kiziguddwa kitegekebwe okukozesebwa. Ddala kiwagaddwa ne kizigulwa kiryoke kikwasibwe anaakikozesa okutta.’ Kaaba owowoggane, ggwe omuntu, kubanga ekitala kino kijjiridde bantu bange n'abakungu bonna aba Yisirayeli. Baweereddwayo okuttibwa, wamu n'abantu bange abalala bonna. Kale weekubeekube ku bisambi nga weesansabaga. Abantu bange nja kusooka kubageza. Singa banyooma okulabulwa, ebyo byonna bijja kubaawo.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba. “Kale kaakano, ggwe omuntu, langa, okube mu ngalo, ekitala kiteme ab'okutta, kiteme ogwokubiri n'ogwokusatu. Kye kitala ekitta, ekitala eky'entiisa ekizikiriza. Ntadde omumwa gwakyo ku miryango gy'abantu bange gyonna, ne kibaleetera okweraliikirira n'okwesittala ne bagwa. Kimyansa ng'enjota, kifuuliddwa kisongovu kitte. Weekaaliise, oteme ku ludda olwa ddyo, tala oteme ku ludda olwa kkono, yonna yonna amaaso go gye goolekera. Nze nja kukuba mu ngalo, nneemale ekiruyi. Nze Mukama, Nze nkyogedde.” Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Kale ggwe omuntu, weeteerewo amakubo abiri, kabaka wa Babilooniya mw'ayinza okuyita ng'akutte ekitala kye, gombi gabe nga gatandikira mu nsi emu, olambe ekifo amakubo ago we geegattira. Olage ekkubo kabaka mw'anaayisa ekitala okutuuka mu Kibuga Rabba eky'Abammoni, n'ekkubo mw'anaayita okutuuka mu Buyudaaya mu Kibuga Yerusaalemu ekiriko ebigo ebigumu. Kubanga kabaka wa Babilooniya ayimiridde mu masaŋŋanzira amakubo gombi we gagattira okusobola okuzuula ekkubo ly'anaakwata, azunzazunza obusaale, ne yeebuuza ku balubaale be ab'omu maka, n'akebera ekibumba ky'ensolo etambiddwa. Mu mukono gwe ogwa ddyo mulimu akasaale akalambiddwako ‘Yerusaalemu’. Kamulagula okusimba ebitomera, okulagira okutta, okukangula amaloboozi baleekaane, okusimba ebitomera enzigi z'emiryango gyakyo, okutuuma entuumu ez'okukiwalampirako, n'okukizimbako ekigo okukitaayiza. Ab'omu Yerusaalemu bino bajja kubiyita bulanzi obutaliimu makulu, olw'obweyamo obwabakolerwa. Naye obulanzi buno buzze okubajjukiza ebibi byabwe bye baakola, n'okubalabula nga bajja kukwatibwa. Kale kino, Nze Mukama Katonda kye ŋŋamba, nti ebibi byammwe bibikkuddwa. Buli omu amanyi bwe muli aboonoonyi. Ebibi byammwe mubiragidde mu bikolwa byammwe byonna. Kale nga bwe mubinzijukiza buli kaseera, nja kubawaayo mukwatibwe abalabe bammwe. “Naawe ggwe omubi, omufuzi wa Yisirayeli, olunaku lwo olw'okusalirwako omusango ogw'enkomerero, lutuuse. Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti ggyako engule n'ekitambaala ku mutwe gwo, kubanga ebintu tebirisigala nga bwe biri. Abagayibwa be balikuzibwa, abeekitiibwa bazzibwe wansi. Ekibuga ekyo ndikizikiriza ne kiggwaawo, era tekiriddawo okutuusa nnyini kyo lw'alijja ne nkimuwa. “Ggwe omuntu, langa oyogere Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba Abammoni abavuma Abayisirayeli. Bagambe nti: ‘Ekitala kisowoddwa okutta, kiziguddwa okuzikiriza, era kimyansa ng'enjota. Okulabikirwa kwe mufuna si kwa mazima, ne bye babalagula bya bulimba. Muli babi era boonoonefu, era olunaku olw'enkomerero, olw'okuweerwako ekibonerezo kyammwe, lutuuse. Ekitala kijja kusala obulago bwammwe. “ ‘Muzze ekitala mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe mwatonderwa, mu nsi mwe mwasibuka, mwe ndibasalira omusango. Era ndibayiirako ddala obusungu bwange, bubookye ng'olunyata lw'omuliro. Era ndibawaayo mu mikono gy'abantu abakambwe ng'ensolo, abamanyirivu mu kuzikiriza. Mulisaanyizibwawo omuliro. Omusaayi gwammwe guliyiibwa mu nsi yammwe, ne mutaddamu kujjukirwa.’ Nze Mukama, Nze njogedde.” Mukama era n'ayogera nange, n'agamba nti: “Ggwe omuntu, onoosalira omusango ekibuga ekyo ekijjudde obutemu? Kale kimanyise byonna ebyenyinyalwa bye kikola. Kitegeeze nti: Mukama Afugabyonna agamba nti nga bw'otemudde abantu bo abangi, ne weejaajaamya ng'osinza ebifaananyi bya balubaale, ekiseera kyo kituuse. Ozzizza omusango gw'obutemu, era weejaajaamizza olw'ebifaananyi bya balubaale bye wakola, ekiseera kyo ne kituuka, era kiweddeko, kyenvudde nkuleka okuvumibwa amawanga n'okusekererwa ensi zonna. Abakuli okumpi n'abakuli ewala, balikusekerera kubanga olina erinnya ebbi era ojjudde obusasamalo. Abakulembeze ba Yisirayeli bonna beesiganga obuyinza bwabwe, ne battira abantu mu ggwe. Mu ggwe, abaana mwe banyoomera bakitaabwe ne bannyaabwe. Mu ggwe, mwe bayiikiririza abagwira, ne balyazaamaanya bannamwandu ne bamulekwa. Onyooma ebintu byange ebitukuvu, era tokuuma Sabbaato ze nateekawo. Abawaayiriza bannaabwe battibwe, bali mu ggwe. Mu ggwe, mwe muli abalya ebitambiriddwa balubaale, era mu ggwe mwe bakolera eby'obukaba. Mu ggwe, mwe muli abeebaka ne bakaabakitaabwe. Mu ggwe, abasajja mwe bakwatira abakazi olw'empaka nga bali mu biseera byabwe ebya buli mwezi. Mu ggwe mulimu abenda ku bakaabasajja, n'abasigula bakaabaana baabwe, era n'abakwata bannyinaabwe bwe bagatta bakitaabwe. Mu ggwe, mulimu abagulirirwa okutemula abantu, n'abamu basaba amagoba ku nsimbi ze bawola Bayisirayeli bannaabwe, ne babagaggawalirako. Banneerabidde.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. “Kale ndikubonereza n'amaanyi olw'obunyazi bwo n'obutemu bwo. Olowooza oliba okyalimu amaanyi, era ng'okyayinza wadde okugolola omukono gwo, mu biseera mwe ndikukangavvulira? Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza. Abantu bo ndibabunya mu mawanga, ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, ne mmalawo ebikolwa byo ebibi. Awo oliggwaamu ekitiibwa mu mawanga amalala, n'omanya nga Nze Mukama.” Awo Mukama n'ayogera nange n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli banfuukidde abatalina mugaso. Bo masengere agaggyiddwamu ekikomo, amasasi, ekyuma, ebbaati oba ffeeza mu kabiga k'omuliro. Kale kaakano Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: nga mwenna bwe mufuuse amasengere, ndibakuŋŋaanya ne mbaggya mu Yerusaalemu, nga bwe bakuŋŋaanya ebiyinjayinja ebirimu ffeeza, oba ekikomo, oba ekyuma, oba ebbaati oba essasi, ne babiteeka mu kabiga k'omuliro ne bafukuta okubisaanuusa, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya mmwe, nga nnina obusungu n'ekiruyi, ne mbateeka awo, ne mbasaanuusa. Ddala ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro gw'obusungu bwange, ne musaanuukira mu Yerusaalemu. Nga ffeeza bw'asaanuukira mu kabiga k'omuliro, nammwe bwe mulisaanuukira mu Yerusaalemu, ne mulyoka mumanya nga Nze Mukama, nze mbamaliddeko ekiruyi kyange.” Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, gamba Abayisirayeli nti ensi yaabwe si nnongoofu, era teritonnyebwamu nkuba mu kiseera kye ndigibonererezaamu nga nsunguwadde. Abalanzi abagirimu beekobye, ne baba ng'empologoma ewuluguma, etaagulataagula ensolo z'eyizze. Basse abantu, ne banyaga ensimbi n'ebyobugagga, na buli kintu eky'omuwendo, ne baleka ng'abakazi bangi bafuuse bannamwandu. Bakabona baamu, bamenya amateeka gange, era bajaajaamizza ebintu byange ebitukuvu. Tebaawula bitukuvu ku bitali bitukuvu. Tebayigiriza bantu kwawula birongoofu na bitali birongoofu, era tebassaayo mwoyo kukuuma Sabbaato ze nateekawo, kale ne bandeetera obutassibwamu kitiibwa. Abafuzi baamu bali ng'emisege egitaagulataagula ensolo ze giyizze. Batta abantu ne babazikiriza, balyoke beetwalire ebintu byabwe bagaggawale. Abalanzi baamu babikkirira ebibi ebyo, ng'abantu bwe babikkirira ekisenge nga bakisiigako langi. Bafuna okulabikirwa okutaliiwo, ne balanga eby'obulimba. Bagamba nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba bw'ati,’ sso nga Nze Mukama, sirina kye njogedde. Abatuuze b'omu nsi eyo bayiikiriza bannaabwe, ne babanyagako ebyabwe. Banyigiriza abaavu n'abali mu bwetaavu, ne bayiikiriza abagwira awatali kubasaasira. Nanoonya mu bo omuntu ayinza okuddaabiriza ekisenge, n'ayimirira mu maaso gange mu kituli ekikubiddwa mu kisenge ekyo, awolereze ensi eyo nneme okugizikiriza, kyokka ne sirabayo n'omu. N'olwekyo mbasunguwalidde nnyo, era nja kubasaanyaawo n'omuliro gw'obusungu bwange, nga mbalanga bye bakoze.” Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. Mukama era n'ayogera nange, n'agamba nti: “Ggwe omuntu, waaliwo abakazi babiri abazaalibwa nnyaabwe omu. Bwe baali bakyali bato nga bali e Misiri, ne bakola obwamalaaya, ne bakoma okuba embeerera. Amannya gaabwe, omukulu yali ayitibwa Ohola, ne muto we ng'ayitibwa Oholiba. Bombi nabawasa, ne banzaalira abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Ng'amannya gaabwe bwe gali, Ohola ye Samariya, Oholiba ye Yerusaalemu. Newaakubadde Ohola yali mukazi wange, yakola obwamalaaya, ne yeerigomba ne baganzi be Abassiriya baliraanwa be. Baali batabaazi abambala ebya kakobe, abakungu era ab'amadaala agaawaggulu mu magye, bonna abavubuka abalabika obulungi, abeebagala embalaasi. Bw'atyo n'akola obwamalaaya n'abasajja Abassiriya, bonna abasinga okwegombebwa. Okubasuusuuta ne kumuleetera okweyonoona ng'asinza ebifaananyi byonna ebya balubaale baabwe. Teyalekayo bwamalaaya bwe, bwe yatandika ng'ali e Misiri, gye yeebakira n'abasajja ng'akyali muto, n'afiirwa obubeererevu bwe. Kyennava mmuwaayo mu mikono gya baganzi be Abassiriya be yeerigombanga nabo. Baamwambula ne bamuleka bwereere ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n'ekitala. Bwe yamala okusalirwa omusango okumusinga, n'afuuka emboozi y'abakazi nga bageya abakoze eby'obuwemu. “Newaakubadde muganda we Oholiba ekyo yakiraba, kyokka Oholiba oyo, n'ayitiriza nnyo okukyama mu kwerigomba kwe, ne mu bwamalaaya bwe n'okusinga muganda we. Naye yasuusuuta Abassiriya baliraanwa be, abakungu, n'abakulu mu magye, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, abeebagala embalaasi, bonna abavubuka abalabika obulungi. Ne ndaba ng'agwagwawadde. Bombi baakwata ekkubo limu. “Oholiba ne yeeyongera mu bwamalaaya bwe, kubanga yalaba ebifaananyi by'abasajja Abakaludaaya abasiigiddwa mu langi emmyufu ku kisenge, nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebitambaala byabwe ku mitwe, ng'ennyambala y'abakungu b'e Babilooni mu nsi y'Abakaludaaya mwe baazaalibwa, bw'eri. Olwabalaba, n'abasuusuuta, n'abatumira ababaka mu Babilooniya. Abababilooni ne bajja ne beebaka naye mu kitanda kye, ne bakola naye obwamalaaya. Bwe baamala okumwonoona, n'abatamwa. Bwe yeeyongera okukola obwamalaaya mu lwatu, ne yeeyambulanga awatakyali nsonyi, ne mmutamwa nga bwe natamwa muganda we. Ne yeeyongerera ddala okukola obwamalaaya, nga bwe yabukolanga nga muwala muto e Misiri. N'asuusuuta baganzi be abalulunkanira okwebaka n'abakazi ng'endogoyi, n'embalaasi ennume bwe zirina omulugube gw'okulinnyira enkazi. Bw'otyo Oholiba n'ottukiza obukaba bwo bwe walina e Misiri, abasajja baayo bwe baakutigaatiga amabeere go n'ofiirwa obubeererevu bwo. “Kale ggwe Oholiba, kino Nze Mukama Afugabyonna, kye nkugamba: ndisitula ne ndeeta baganzi bo abo b'otamiddwa, ne bakulumba ku njuyi zonna. Ndireeta Abababilooni n'Abakaludaaya bonna, abasajja abava e Pekodi, n'e Sowa, n'e Kowa, n'Abassiriya bonna. Ndikuŋŋaanya abavubuka abo bonna abalabika obulungi, abakungu n'abakulu mu magye abalangira n'abasajja ab'ettutumu bonna nga beebagadde embalaasi. Balikulumba nga babagalidde ebyokulwanyisa nga bava mu bukiikakkono nga balina amagaali agasikibwa embalaasi n'amalala ge bawalulira ku zinnamuziga, n'eggye eddene erivudde mu mawanga. Balijja balina enkuufiira n'engatto ennene n'entono, eby'okwetaasa. Balikutaayiza ku buli ludda. Ndikuwaayo mu mikono gyabwe, ne bakusalira omusango nga bakolera ku mateeka gaabwe. Okukulaga bwe nkusunguwalidde, ndibaleka ne bakumalirako ekiruyi kyabwe. Balikusalako ennyindo n'amatu, ne batta abaana bo. Ddala balitwala batabani bo ne bawala bo ne babookya omuliro. Balikwambulamu ebyambalo byo, ne bakuggyako amajolobera go agakuwoomya. Bwe ntyo bwe ndimalawo obukaba bwo, n'obwamalaaya bwo bwe wava nabwo e Misiri. Toliddamu kutunuulira bifaananyi bya balubaale b'e Misiri, wadde okuddamu okujjukira Misiri.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndikuwaayo mu mikono gy'abantu b'okyaye era b'otamiddwa. Era nga bwe bakukyaye, balikuggyako ebibyo byonna bye wateganira, balikwambula ne bakuleka ng'oli bwereere, ng'ebikolwa byo eby'obwenzi n'eby'obwamalaaya byanikiddwa. Obukaba bwo n'obwenzi n'obwamalaaya bwo, bwe bukutuusizza ku ebyo kubanga wayenda n'amawanga, ne weeyonoona ng'osinza ebifaananyi bya balubaale baago. Wagoberera emize gya muganda wo, kyendiva nkuwa ekibonerezo ng'ekikye.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Olinywa ku kikopo kya muganda wo eky'okubonaabona, ekiwanvu era ekinene. Olisekererwa n'okudaalirwa. Ekikopo ekyo kijjuvu. Kirikujjuza obutamiivu n'obuyinike. Ekikopo kya muganda wo Samariya, kye kikopo eky'ekikangabwa n'okwabulirwa. Olikinywa kyonna n'okikaliza, n'ebibajjo byakyo ebyatise n'obyeyaguza amabeere. Nze Mukama Afugabyonna, Nze njogedde.” Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Nga bw'onneerabidde n'onkuba amabega, kale ojja kubonaabona olw'obukaba bwo n'obwamalaaya bwo.” Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, onoosala omusango gwa Ohola ne Oholiba? Kale bategeeze ebyenyinyalwa bye baakola. Baayenda era ne batemula. Baayenda n'ebifaananyi bya balubaale. Baatemula batabani baabwe be banzaalira. Baabookya babe ebitambiro bye bagabula balubaale baabwe okulya. Era bankoze na kino: ku lunaku lwe lumu bajaajaamizza Ekifo kyange Ekitukuvu, era boonoonye Sabbaato gye nateekawo. “Bwe baamala okutta abaana baabwe ne babatambirira ebifaananyi bya balubaale, ne bajja ku lunaku olwo mu Kifo kyange Ekitukuvu ne bakijaajaamya! “Emirundi n'emirundi baatuma ababaka okuyita abasajja abava ewala, ne bajja. Abakazi bombi abooluganda, ne banaaba ne beenyiriza, era ne beewoomya n'ebyobuyonjo ne batuula ku kitanda ekyekitiibwa, emmeeza ng'etegekeddwa mu maaso gaakyo, kwe batadde obubaane n'omuzigo gw'emizayiti bye nabawa. Eddoboozi ly'ekibinja ky'abantu abali mu ddembe lyabwe, ne liwulirwa, abasajja abakopi omuli n'abatamiivu, ne baleetebwa okuva mu ddungu. Ne bateeka obukomo ku mikono gy'abakazi abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe. Ne ŋŋamba nti: ‘Abakaddiye banaayenda, ne bakola obwamalaaya n'abasajja ng'abo?’ Ne njogera ku oyo eyali akaddiyidde mu bwenzi nti: ‘Kaakano nabo banaakola naye obwamalaaya?’ Kyokka ne bagenda emirundi n'emirundi eri bamalaaya bano, Ohola ne Oholiba, abakazi abagwenyufu. Abantu ab'empisa ennungi, be balibasalira ogw'obwenzi n'ogw'obutemu ne gibasinga, kubanga benzi era batemu.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndibasindikira ogubinja gw'abantu ne nguleka ne gubayuuguumya era ne gubanyagulula. Kale ogubinja ogwo gulibakuba amayinja, ne gubafumita n'ebitala. Gulitta abaana baabwe abalenzi n'abawala, ne gwokya ennyumba zaabwe omuliro. Bwe ntyo bwe ndikomya obugwenyufu mu nsi eno, okulabula abakazi bonna obutakolanga bya bwenzi nga mmwe. Era mmwe abakazi ababiri, mulibonerezebwa olw'obukaba bwammwe, n'okusinza ebifaananyi bya balubaale. Kale olwo mulimanya nga Nze Mukama, Katonda.” Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'ekkumi, mu mwaka ogw'omwenda nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, wandiika olunaku lw'omwezi olw'olwaleero, kubanga luno lwe lunaku kabaka wa Babilooniya lw'atandikiddeko okuzingiza Yerusaalemu. Gerera ab'eggwanga eryo ejjeemu olugero, obagambe nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Teeka sseffuliya ku kyoto, giteekeko ogifukemu amazzi. Giteekemu ebifi by'ennyama buli kifi ekirungi: ekisambi n'omukono. Gijjuze amagumba agasinga obulungi. Kwata mu ggana oggyemu eyo esingamu obulungi, oteekemu enku wansi, ofumbe bulungi byesere, ennyama n'amagumba biggye.’ ” Mukama Afugabyonna, kyava agamba nti: “Ekibuga ekitemu zikisanze! Kiri nga sseffuliya erimu obutalagge, ng'obutalagge bwayo tebugivaamu. Gitoolemu kifi ku kifi, awatali kweroboza, kubanga waaliwo obutemu mu kyo. Naye omusaayi tekyaguyiwa ku ttaka kubikkibwako nfuufu. Kyaguteeka ku lwazi olwereere. Omusaayi ogwo ngutadde ku lwazi olwereere guleme okubikkibwako, gusitule obusungu bwange okuwoolera eggwanga.” Mukama Afugabyonna kyava agamba nti: “Zikusanze ggwe ekibuga ekitemu. Nange nzennyini ndikola entuumu ennene ey'enku. Yongerako enku nnyingi, okumemu omuliro. Teekamu ebirungo. Fumba okalize amazzi, ebifi bisiriire. Sseffuliya enkalu giteeke ku manda ebugume, ekikomo kyayo kyengerere, obujama bwayo busaanuukire mu kyo, obutalagge bwayo buggweewo. Wadde nga kikooya, kitawaanyiza bwereere: obutalagge bwakyo obungi tebukivaamu. Obutalagge bwakyo tebukivaamu na muliro. Obukaba bwo, Yerusaalemu bukwonoonye. Wadde nafuba nkulongoose, naye tewalongooka. Toliddamu kulongooka okutuusa lwe ndikumalirako ekiruyi kyange. Nze Mukama njogedde. Ekiseera kirituuka, ne nkola. Siridda mabega, sirisonyiwa, era sirikwatibwa kisa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku mpisa zo, ne ku bikolwa byo.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, laba, nja kukuggyako mbagirawo, oyo gw'otunulako n'osanyuka. Naye tojja kukungubaga wadde okukulukusa amaziga. Sindira muli kasirise. Tokungubagira afudde. Weesibe ekiremba kyo ku mutwe, onaanike engatto mu bigere. Teweebikka ku maaso, era tolya ku mmere ya bakungubazi.” Awo ne njogera n'abantu mu budde obw'enkya. Ku olwo akawungeezi, mukazi wange n'afa. Ku lunaku olwaddirira, ne nkola nga Mukama bwe yandagidde. Abantu ne ba mbuuza nti: “Tubuulire obubaka obutukwatako, obuli mu ebyo by'okola.” Awo ne mbagamba nti: “Mukama yayogedde nange, n'aŋŋamba okubagamba mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti: Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndyonoona Ekifo kyange Ekitukuvu ekibaleetera okwemanya bwe muli ab'amaanyi, era kye mwegomba okutunulako ne kibatwala omutima. Era batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka mu Yerusaalemu, balittirwa mu lutalo. Olwo nammwe mulikola nga nze bwe nkoze: temulibikka ku mitwe gyammwe, era temulirya ku mmere ya bakungubazi. Ebiremba byammwe birisigala ku mitwe gyammwe, n'engatto zammwe zirisigala mu bigere byammwe. Temulikungubaga era temulikaaba maziga, naye mulikogga olw'ebibi byammwe, buli muntu asindire munne ennaku. Kale Ezeekyeli aliba akabonero akabalabula mmwe: byonna by'akoze nammwe bye mulikola. Ekyo bwe kirituukirira, kale mulitegeera nga Nze Mukama Afugabyonna.’ ” Mukama n'aŋŋamba nti: “Kale ggwe omuntu, ku lunaku olwo ndibaggyako ekyo ekibaleetera okwemanya bwe bali ab'amaanyi, ekibasanyusa, ekibeewaanya, kye beegomba okutunulako era ekibatwala omutima. Era ndibaggyako batabani baabwe ne bawala baabwe. Ku lunaku olwo oyo aliba awonyeewo alijja gy'oli okukikutegeeza. Ku lunaku olwo, olulimi lwo lulisumulukuka n'osobola okuddamu okwogera n'oyo aliba awonyeewo. Bw'otyo bw'oliba akabonero akalabula abantu abo, era balimanya nga Nze Mukama.” Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, simba amaaso go okwolekera Abammoni, olange ebizibu ebiribatuukako. Obagambe nti: ‘Muwulire Mukama Afugabyonna ky'agamba. Agamba nti nga bwe mwasanyuka okulaba ng'Ekifo kyange Ekitukuvu kyonooneddwa, n'okulaba ng'ensi ya Yisirayeli efuuse matongo, era ng'ab'Eggwanga lya Buyudaaya batwaliddwa mu buwaŋŋanguse nga basibe, kale ndibawaayo, abantu abava ebuvanjuba ne babawangula. Balikuba ensiisira zaabwe mu nsi yammwe, ne bagibeeramu. Balirya ebibala bye mulimye, era ne banywa amata g'ensolo zammwe. Ndifuula Ekibuga Rabba ekisibo eky'eŋŋamiya, n'ensi ya Ammoni yonna, ne ngifuula ekifo omugalamira amagana g'endiga n'embuzi, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.’ ” Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Nga bwe mukubye mu ngalo ne musagambiza, ne mulaga ettima n'effutwa bye mulina ku nsi ya Yisirayeli, ndibabonereza ne mbawaayo mu buyinza bw'ab'amawanga amalala, babanyage. Ndibazikiririza ddala ne mutaddayo kuba ggwanga, wadde okuba n'ensi eyammwe ku bwammwe, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ab'e Mowaabu ne Seyiri nga bwe bagamba nti Buyudaaya eri ng'amawanga amalala gonna, Zef 2:8-11 ebibuga ebitaasa ensalo za Mowaabu omuli n'ebibuga Beti Yesimooti, ne Baali Mewooni ne Kiriyatayiimu ndibireka ne birumbibwa. Ndireka abantu abava ebuvanjuba okulumba Abamowaabu n'Abammoni ne babawangula, ne bataddayo kuba ggwanga. Ndibonereza Abamowaabu, balyoke bamanye nga Nze Mukama.” Mukama Katonda agamba nti: “Abeedomu baakola bubi nnyo okuwoolera eggwanga ku b'omu Buyudaaya awatali kusaasira. Amo 1:11-12; Ob 1-14; Mal 1:2-5 Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti ndibonereza Edomu ne ngimalamu abantu n'ensolo. Ndigifuula matongo. Abantu baamu balittirwa mu lutalo okuva e Temani okutuuka e Dedani. Ndikozesa abantu bange Abayisirayeli okuwoolera eggwanga ku Edomu, bakole ku Edomu nga bwe njagala, bagimalireko obusungu n'ekiruyi kyange, Abeedomu balyoke bamanye nga bwe mpoolera eggwanga.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Abafilistiya nga bwe bawooledde eggwanga ku balabe baabwe ab'olubeerera, ne babazikiriza nga bajjudde obukyayi, Zef 2:4-7; Zek 9:5-7 Nze Mukama Katonda kyenva ŋŋamba nti ndirumba Abafilistiya abo ne mbazikiriza. Ndimalirawo ddala Abakereti, nsaanyeewo n'abaliba bawonyeewo ku b'oku lubalama lw'ennyanja. Ndibabonereza n'obukambwe, mpoolere eggwanga ku bo. Olwo balimanya nga Nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.” Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: Mat 11:21-22; Luk 10:13-14 “Ggwe omuntu, Tiiro nga bwe kyayogera ku Yerusaalemu nti: ‘Otyo! Yerusaalemu ekyali omulyango gw'obusuubuzi bw'amawanga nga bwe kimenyeddwa ne kifuuka amatongo, nze nzize mu kifo kyakyo, kaakano nja kugaggawala.’ Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti ndi mulabe wo ggwe Ekibuga Tiiro, era ng'ennyanja bw'esitula amayengo gaayo, nange ndisitula amawanga mangi, ne gajja ne gakulwanyisa. Galimenya ebigo byo, ne gazikiriza eminaala gyo. Galikukalakatako ettaka, n'osigala lwazi lwereere. Onoobanga kifo abavubi mwe baanika obutimba bwabwe, awo w'oli mu nnyanja. Nze Mukama Afugabyonna, nze njogedde. Amawanga galyefunira omunyago mu Tiiro, era abantu abali mu bubuga bwakyo ku lukalu, balittirwa mu lutalo, Tiiro kiryoke kimanye nga Nze Mukama.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndireeta Nebukadunezzari Kabaka wa Babilooniya, kabaka asinga bakabaka bonna amaanyi, ajje alumbe Tiiro. Aliva ebukiikakkono, ajje n'eggye eddene omuliba embalaasi, n'amagaali, n'abeebagadde embalaasi. Alittira mu lutalo abo ab'omu bubuga obuli ku lukalu. Alikuzimbako ebigo okukuzingiza, akutuumeko ebifunvu eby'okukuwalampirako, akulumbe ng'akutte engabo eŋŋumu ng'ekisenge. Alimenya ebigo byo ng'akozesa ebyuma ebitomera, era alimenyerawo ddala eminaala gyo ng'akozesa ensuuluulu ze. Embalaasi ze eziyinze obungi, zirisitula enfuufu n'ekubikka. Omusinde n'oluyoogaano lw'embalaasi, ne nnamuziga, n'amagaali, birikankanya ebisenge byo ng'ayingira mu miryango gyo, ng'ayita mu miryango gyo nga bwe bayita mu bisenge by'ekibuga ebikubiddwamu ebituli. Alirinnyirira enguudo zo zonna n'ebinuulo by'embalaasi ze, era alittira abantu bo mu lutalo. Empagi zo ez'amaanyi zirisuulibwa wansi. Ebibyo ebyobugagga n'eby'obusuubuzi, balibiwenja yonna gye biri ne babinyaga. Balimenyawo ebisenge byo, ne bazikiriza amayumba go amalungi. Amayinja go, n'embaawo zo, n'ebibyo ebirala byonna bye boonoonye, balibisuula mu nnyanja. Ndikomya amaloboozi g'abayimbira mu ggwe, era ennanga zo teziriddayo kuwulirwa nate. Ndikufuula lwazi olwereere, abavubi kwe banaayanikanga obutimba bwabwe, era toliddamu kuzimbibwa, kubanga nze Mukama Afugabyonna njogedde.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Mukama agamba Tiiro nti: “Olowooza ab'okubizinga bwe baliwulira okubwatuka kwo ng'ogwa, n'okusindogoma kw'abafumitiddwa nga batirimbulirwa mu ggwe, tebalikankana? Awo bakabaka bonna ab'ensi eziriraanye ennyanja, baliva ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne baggyako eminagiro gyabwe, ne bambulamu ebyambalo byabwe ebiriko amajolobera, nga bakankana, ne batuula wansi ku ttaka nga batintima buli kaseera, nga bawuniikiridde olw'ebikutuuseeko. Balikukungubagira nga bakugamba nti: ‘Ng'ozikiridde ggwe ekibuga ekyabeerangamu abalunnyanja! Nga wayatiikirira! Wali wa maanyi ku nnyanja: ggwe n'abatuuze bo, nga mutiisa abagisaabalako. Kaakano ebizinga bikankana ku lunaku lw'ogwiriddeko, weewaawo ebizinga ebiri mu nnyanja kati byeraliikirivu, nga biraba bw'oggwaawo!’ ” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwa awo ettayo, n'oba ng'ebibuga ebitakyabeeramu bantu, bwe ndikubunduggulako ennyanja, amazzi amangi ne gakubuutikira, kale ndikuserengesa mu bafu abakkirira emagombe, eri abantu ab'emirembe egy'edda. Ndikuteeka ku ntobo y'ensi ekuzimu, mu bifo ebyafuuka edda amatongo, obe wamu n'abafu abali emagombe, olemenga kusengebwangamu, wadde okubalirwanga mu nsi y'abalamu. Ndikutuusa ku nkomerero etiisa, oggweewo, ne bwe balikunoonya batya, oleme kuddayo kulabikako ennaku zonna.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kungubagira Ekibuga Tiiro, okigambe nti: Ggwe Tiiro, omwalo gw'ennyanja, era asuubulagana n'abantu ab'oku bizinga ebingi, Mukama Afugabyonna akugamba nti: ‘Ggwe Tiiro, ogamba nti oli mulungi, toliiko bbala. Wateekebwa mu nnyanja wakati, abazimbi bo ne bakuyooyoota. Embaawo zonna ze baakozesa, baaziggya mu miberosi gy'e Seniri. Mu muvule gw'e Lebanooni, mwe baakukolera omulongooti. Mu myera gye Basani mwe baakola enkasi zo. Baakwaliiramu embaawo ez'enzo, eziva mu bizinga by'e Kittimu, ze bawaayiddemu amasanga. Amatanga go baagakola mu lugoye olweru okuli emidalizo egyava e Misiri. Ago ye bbendera yo. Wabikkibwako engoye ennungi eza bbululu n'eza kakobe, ezaava ku bizinga bya Elisa. Abatuuze b'e Sidoni ne Aruvadi be baali abavuzi b'amaato go. Abakungu abaali mu ggwe, Tiiro, be baakuvugiranga emmeeri. Abantu abakulu mu Gebali n'abagezi baayo, baali mu ggwe, nga be baddaabiriza emmeeri zo. Emmeeri zonna ez'oku nnyanja n'abalunnyanja baazo, baabeeranga mu ggwe okusuubula ebyamaguzi byo. “ ‘Abaserikale Abaperusi, n'Abaluudi, n'Abapuuti, baali mu ggye lyo. Baawanikanga mu ggwe engabo n'enkuufiira ez'ebyuma, ne bakufunyisa ettutumu. Abaserikale b'e Aruvadi awamu n'eggye lyo, be baakuumanga ebigo byo. N'abasajja b'e Gamadi, be baabanga mu minaala gyo. Baatimbanga engabo zaabwe ku bisenge byo ne bakulungiya. “ ‘Ab'e Tarusiisi baasuubulagananga naawe ebyamaguzi byo ebya buli ngeri, ne bakusasulamu ffeeza n'ekyuma, n'amabaati, n'amasasi. Ab'e Yavani, Tubali ne Meseki, baasuubulagananga naawe. Baawangayo abaddu n'ekikomo, ne bakugulako ebintu. Ab'e Togaruma baagulanga eby'obusuubuzi bwo, nga bakuwa embalaasi ezaabulijjo, n'ezo ezikozesebwa mu ntalo, era n'ennyumbu. Abantu b'e Dedani be wasuubulagananga nabo; era ebizinga bingi wabirinamu akatale. Baakuleeteranga ebintu okuwaanyisaamu amasanga, n'embaawo z'emitoogo. Abassiriya baasuubulagananga naawe olw'ebintu ebingi bye wakolanga, bye baakuwangamu amayinja ag'omuwendo, aga kiragala, n'engoye eza kakobe, n'emidalizo, n'engoye enjeru ennungi, n'amayinja amalungi aga korali, n'amamyufu amatwakaavu. Buyudaaya n'ensi ya Yisirayeli zaasuubulagananga naawe. Baawangayo eŋŋaano eyavanga e Minniti, n'ebyakawoowo, n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'envumbo okukugulako ebintu. Ab'e Damasiko baakugulangako ebintu bye wakolanga mu bungi, n'ebyobugagga bye walina ebingi ebya buli ngeri. Baabikusasulangamu omwenge gw'emizabbibu ogw'e Helubooni, n'ebyoya by'endiga ebyeru. Daani ne Yavani beetawulanga, ne bagula ebintu byo. Ekyuma ekimasamasa, ebyamaguzi ebiyitibwa Kassiya ne Keeni, bye bimu ku byali mu by'otunda. Ab'e Dedani, baasuubulagananga naawe mu ngoye ezikolwamu amatandiiko, ag'okuteeka ku mbalaasi ezeebagalwa. Wakolagananga n'Abawarabu era n'abakungu bonna ab'e Kedari, mu busuubuzi bw'endiga ento, ne sseddume z'endiga n'ez'embuzi. Abasuubuzi b'e Seeba ne Raama, baaleetanga ebyakawoowo ebisinga obulungi, n'amayinja gonna ag'omuwendo, ne zaabu, okugula ebintu byo. Wasuubulagananga n'ebibuga Harani, ne Kanne, ne Edeni, n'abasuubuzi b'e Seeba n'e Assuri, n'e Kilumaadi. Wasuubulagananga nabo mu bintu ebirungi, engoye eza kakobe, ebyambalo ebiriko emidalizo, n'ebiwempe ebya langi ezinekaaneka, n'emiguwa emirange obulungi. Eby'obusuubuzi byo byatwalirwanga mu maato amanene, ag'e Tarusiisi. Wajjula ng'emmeeri, n'oba waakitiibwa mu nnyanja. Abavuzi b'enkasi zo baakutuusa mu mazzi amangi. Omuyaga gw'ebuvanjuba gukumenyedde mu buziba bw'ennyanja. Obugagga bwo, n'ebyamaguzi byo, abalunnyanja bo bonna, n'abagoba bo n'abakozi, n'abatambuza ebyamaguzi byo, n'abaserikale bo bonna abali mu ggwe, n'abantu abalala bonna abali mu ggwe, baligwa mu buziba bw'ennyanja, ku lunaku lw'olizikirira. Okuleekaana kw'abagoba bo, kulikankanya ebyalo ebiriraanyeewo.’ “Abakwata enkasi bonna, na buli mulunnyanja, emmeeri zaabwe balizaabulira, ne bayimirira ku lubalama. Balireekaana nga bakungubaga ku lulwo. Balyeyiira enfuufu mu mitwe gyabwe, ne beekulukuunya mu vvu. Ku lulwo balyemwako enviiri, ne bambala ebikutiya. Balikukaabira amaziga, emitima gyabwe ne gijjula ennyiike. Balikuba ebiwoobe mu kukungubaga, ne bakaaba ne basindogoma nti ani yenkana Tiiro, Tiiro oyo asirikkidde mu nnyanja! Ebintu byo bwe byagobanga ku lukalu nga biggyiddwa mu nnyanja, wamalangawo obwetaavu bw'abangi, n'ogaggawaza bakabaka b'ensi, olwa nnamunkukumbo w'obugagga bwo, n'ow'eby'obusuubuzi bwo. Naye kaakano omenyekedde mu nnyanja, mu bwengula bw'amazzi amangi. Ebibyo n'abakozi bo bonna batokomokedde mu ggwe, mu nnyanja. Bonna abatuuze b'oku bizinga bakubiddwa encukwe ku lulwo, ne bakabaka baabwe batidde nnyo, era bonna batintima. Abasuubuzi b'omu mawanga bennyamivu ku lulwo. Obafuukidde kya ntiisa, kubanga tokyaddayo kubaawo nate!” Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tegeeza omufuzi wa Tiiro, Nze Mukama Afugabyonna bye mmugamba nti: ‘Weegulumiza mu mutima gwo n'ogamba nti oli lubaale, era otudde ku ntebe ya lubaale mu nnyanja wakati. Kyokka oli muntu buntu sso si lubaale, newaakubadde ng'olowooza mu mutima gwo nti oli lubaale. Olowooza ng'oli mugezi okusinga Daniyeli, nga tewali kyama kye bayinza kukukisa. Amagezi go n'okutegeera byakufunyisa obugagga, n'otereka zaabu ne ffeeza mu mawanika go. Olw'amagezi go amangi mu byobusuubuzi, weeyongedde okugaggawala, ne weegulumiza olw'obugagga bwo. “ ‘Kale Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti nga bw'olowooza ng'olina amagezi ng'aga lubaale, ndisindika ab'amawanga agasingayo okuba amakambwe, ne bakulumba mu lutalo, ne bazikiriza ebintu ebirungi bye wafuna olw'amagezi go, ne boonoona ekitiibwa kyo. Balikutta ne bakussa mu bunnya, era olifa ng'abo abattirwa eyo mu nnyanja wakati. Era olyogerera mu maaso g'abo abakutta nti oli lubaale? Oliba muntu buntu sso si lubaale, mu mikono gy'abo abakufumita. Olifa ng'embwa mu mikono gya bannaggwanga abatamanyi Katonda. Nze Mukama Afugabyonna, Nze njogedde.’ ” Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kungubagira Kabaka wa Tiiro, omutegeeze Nze Mukama Afugabyonna bye mmugamba nti: ‘Wali kyakulabirako eky'omuntu atuukiridde, ng'ojjudde amagezi, era ng'oli mulungi nnyo mu ndabika. Wali obeera mu Edeni, ennimiro ya Katonda, ng'owundiddwa na buli jjinja ery'omuwendo ennyo: sarudiyo, topaazi, alimaasi, berulo, onikiso, yasipero, safiro n'ejjinja erya kiragala, ne kabunkulo, ne zaabu. Byakutegekerwa ku lunaku kwe watonderwa. Nalonda kerubi ne mmuteekawo okukukuuma. N'obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu, n'otambulira wakati mu mayinja agamyamyansa ng'omuliro. Empisa zo zaali nnungi okuva lwe watondebwa, okutuusa lwe watandika okukola ebibi. Weemalira mu byobusuubuzi, ne bikuleetera obukambwe n'okola ebibi. Kyenvudde nkugoba ku lusozi lwange olutukuvu nga nkulanga obwonoonefu bwo, kerubi eyali akukuuma n'akugoba, n'oggyibwa ku mayinja agamyamyansa ng'omuliro. Weekulumbaza olw'obulungi bw'endabika yo, ettutumu lyo ne likuleetera okweyisa ng'omusiru. Kyennava nkusuula wansi, ne nkuteeka mu maaso ga bakabaka abalala, bakutunuleko balabuke. Olw'ebibi byo ebingi n'obukumpanya mu busuubuzi bwo, wavumaganya ebifo byo ebitukuvu. Kyenvudde nzigya omuliro wakati mu ggwe ne gukwokya, abakutunulako bonna ne balaba bw'ofuuse evvu. Ab'omu mawanga gonna abakumanyi balyewuunya ekikutuuseeko, n'obakwasa entiisa, ng'ozikiridde. Toliddamu kubaawo ennaku zonna!’ ” Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, amaaso go goolekeze Ekibuga Sidoni, olange eby'akabi ebirikituukako. Okitegeeze, Nze Mukama Afugabyonna, bye njogera ku kyo, nti nze ndi mulabe wo, ggwe Sidoni, era abantu balintendereza olw'ebyo bye ndikola mu ggwe. Balimanya nga Nze Mukama, bwe ndiraga bwe ndi omutuukirivu, nga mbonereza abo abakubeeramu. Ndisindika ebirwadde ebibi mu ggwe, era omusaayi gulikulukutira mu nguudo zo. Abantu bo balittibwa ng'olumbiddwa ab'ebitala ku njuyi zonna. Olwo balimanya nga Nze Mukama.” “Ku mawanga gonna ageetooloddewo agaali gajooga ab'Eggwanga lya Yisirayeli, tewaliba na limu liriba nga maggwa agabafumita mmwe wadde agabaagula. Kale balimanya nga nze Mukama Afugabyonna.” Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Bwe ndimala okukuŋŋaanya Abayisirayeli ne mbaggya mu mawanga mwe baasaasaanyizibwa, ab'amawanga gonna, baliraba bwe ndi omutuukirivu. Olwo Abayisirayeli balibeera mu nsi yaabwe, gye nawa omuweereza wange Yakobo. Balikkalira mirembe mu yo, ne bazimba amayumba, ne basimba ennimiro z'emizabbibu. Ddala Abayisirayeli baliba mirembe, bwe ndimala okubonereza baliraanwa baabwe ababajooga. Olwo balimanya nga Nze Mukama, Katonda waabwe.” Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogw'ekkumi, mu mwaka ogw'ekkumi nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, yolekeza amaaso go Kabaka w'e Misiri, olange eby'akabi ebirimutuukako, n'ebirituuka ku Misiri yonna. Yogera omutegeeze, Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Ndi mulabe wo ggwe Kabaka wa Misiri, ggwe gugoonya ogunene, ogugalamira mu ngezi y'amazzi, n'ogamba nti: Omugga Kiyira gwange, era nze nagwekolera!’ “Nga bwe wagamba nti: Omugga Kiyira gugwo era ggwe wagukola, nditeeka amalobo mu mba zo, ne ndeetera ebyennyanja eby'omu mugga gwo okukwatira ku magamba go, ndyoke nkusikeyo mu mugga gwo wamu n'ebyennyanja byonna ebikwatidde ku ggwe. Ndikuleka ng'osuuliddwa mu ddungu ggwe, n'ebyennyanja ebyo eby'omu mugga gwo. Oligwa ku ttale ebweru, ne wataba akuggyawo wadde akuziika. Nkuwaddeyo oliibwe ensolo ez'oku ttale, n'ebinyonyi ebibuuka mu bbanga. Kale abantu bonna abali mu Misiri balimanya nga nze Mukama, kubanga mmwe Abamisiri, Abayisirayeli baabeesiga, naye ne mubabeerera ng'omuggo ogw'olumuli. Bwe baabakwata okubeesimbaggirizaako, mwamenyeka, ne mubafumita mu nkwawa zaabwe. Bwe baabeesigamako, mwamenyeka, ne muleetera emigongo gyabwe okwekaaka. Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva nkugamba ggwe Misiri, nti ndireeta ab'ebitala ne bakulumba, ne batta mu ggwe abantu n'ensolo. Ensi y'e Misiri erisigala matongo ng'ezise. Olwo balimanya nga Nze Mukama. Kale ndi mulabe wo, era ndi mulabe wa migga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere era amatongo, okuva e Migidooli okutuuka e Siyeene, n'okutuuka ku nsalo ne Etiyopiya. Tewaliba kigere kya muntu wadde eky'ensolo ekiriyitamu. Teribeerebwamu okumala emyaka amakumi ana. Ensi y'e Misiri ndigifuula amatongo n'okusinga ensi endala zonna ezaali zifuuse amatongo. N'ebibuga byayo birimala emyaka amakumi ana nga bizisiddwa okusinga ebirala byonna ebyali bifuuliddwa amatongo. Abamisiri ndibasaasaanya mu mawanga mangi ku nsi, ne banoonya obubudamo mu nsi nnyingi.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Emyaka amakumi ana bwe giriyitawo, ndikuŋŋaanya Abamisiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa. Ndikomyawo Abamisiri nga bava mu buwaŋŋanguse, ne mbazza mu nsi y'e Paturoosi, ensi mwe baazaalirwa, babeere eyo, nga bafuuse bwakabaka obunafu. Baliba obwakabaka obusingirayo ddala okuba obunafu, obutaliddayo kwekulumbaliza ku mawanga malala. Ndikendeeza omuwendo gwabwe, ne bataddayo kufuga mawanga malala. Eggwanga lya Yisirayeli teririddayo kubeesiga kuliwa buyambi. Ebituuse ku Misiri binajjukizanga Yisirayeli nga kyali kikyamu okubeesiganga. Olwo Abayisirayeli balimanya nga Nze Mukama Afugabyonna.” Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye, mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, Kabaka Nebukadunezzari owa Babilooniya yasitula eggye lye ery'amaanyi okulwanyisa Tiiro. N'atikka abaserikale be emigugu emizito, buli mutwe ne gukutuka ekiwalaata, na buli kibegabega ne kinuubuka, kyokka ye, wadde abaserikale be, tebalina kye baaganyulwa mu kulumba Tiiro. Kale kaakano Nze Mukama Afugabyonna kino kye ŋŋamba nti Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya, ndimuwa ensi y'e Misiri. Alinyaga nnamunkukumbo w'obugagga, n'atwala omunyago nga ye mpeera y'abaserikale be. Mmuwadde ensi y'e Misiri ebe empeera ye gye yatabaalira, kubanga eggye lye lyakolera nze. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. “Ekyo bwe kirituukirira, Abayisirayeli ndibafuula ba maanyi, era ndikuleka ggwe Ezeekyeli, n'oyogerera buli muntu w'ayinza okukuwulirira. Olwo balimanya nga Nze Mukama.” Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu langa oyogere Nze Mukama Afugabyonna bye ŋŋamba. Mukungubage nga mugamba nti: Olunaku olwo zirusanze! Olunaku olwo luli kumpi, olunaku Mukama lw'alikolerako eby'amaanyi. Luliba lunaku lwa bire, olunaku amawanga kwe galibonererezebwa. Walibaawo olutalo mu Misiri n'obulumi buligwira Kuusi. Bangi balittibwa mu Misiri, obugagga bwayo ne bunyagibwa; n'emisingi gyayo girimenyebwawo. Ab'e Kuusi ne Puuti ne Luudi Abawarabu n'Abalibiya, n'ab'ensi zonna ez'omukago, balifiira mu lutalo olwo.” Mukama agamba nti: “Abo abawanirira Misiri baligwa, amaanyi agagireetera okwekuza galimenyebwawo, n'abantu baayo balittirwa mu lutalo, okuva e Migidooli okutuuka e Siyeene. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. Erifuuka amatongo, n'okusinga ensi endala zonna ezaali zifuuse amatongo, n'ebibuga byayo birizika n'okusinga ebibuga ebirala byonna ebyali bizisiddwa. Bwe ndimala okukuma omuliro mu Misiri abagiyambako bonna ne bafa, olwo balimanya nga Nze Mukama. Ku lunaku olwo ndituma ababaka ne bagendera mu mmeeri, okutiisa ab'e Kuusi abatebenkedde. Balituukibwako obulumi ku lunaku Misiri kw'alibonererezebwa. Ddala olunaku olwo lujja.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndikomya ebyobugagga bwa Misiri nga nkozesa Nebukadunezzari, Kabaka wa Babilooniya. Ye n'ab'eggye lye abasingayo mu mawanga okuba abakambwe, balijja ne bazikiriza ensi eyo. Balisowola ebitala byabwe ne balwanyisa Misiri, ne bagijjuza emirambo gy'abattiddwa. Ndikaza Omugga Kiyira, ne nteeka ensi y'e Misiri mu mikono gy'abantu ababi. Ndireka abagwira boonoone ensi eyo ne byonna ebirimu. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.” Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Era ndizikiriza ebifaananyi bya balubaale e Misiri, mbimalewo mu Menfiisi. Tewalisigalawo n'omu alitwala bufuzi mu nsi eyo, era ndigireetamu entiisa. Paturoosi ndikifuula matongo, Zowani nkikumeko omuliro, ne Tebesi nkiwe ekibonerezo. Ndimalira obusungu bwange ku Kibuga Siini, kye kigo kya Misiri eky'okwerindiramu ekisingayo obugumu, era ndimalirawo ddala abantu b'e Tebesi. Ndikuma omuliro ku Misiri, Siini kiribonaabona nnyo. Ebisenge bya Tebesi birikubwamu ebituli, n'Ekibuga Menfiisi, kinaabeeranga mu ntiisa buli lunaku. Abalenzi ab'omu bibuga Aveni ne Pibeseti balittirwa mu lutalo, abantu abalala ne batwalibwa nga basibe. Ekizikiza kirikwata e Tehafuneheesi bwe ndimenyerayo obuyinza bwa Misiri, ne nkomya amaanyi gaabwe agaali gabeeyagaza. Ekire kiribikka ku Misiri, abantu b'omu bibuga byayo ne batwalibwa nga basibe. Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama.” Ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi ogw'olubereberye, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, mmenye omukono gwa Kabaka wa Misiri. Tegusibiddwako ddagala wadde okuyungibwa gusobole okuwona n'okuba ogw'amaanyi, okuddamu okukwata ekitala. Kale Nze Mukama Afugabyonna, ŋŋamba nti ndi mulabe wa Kabaka wa Misiri, era ndimenya emikono gye gyombi, ogw'amaanyi n'ogwo ogwamenyeka, mmusuuze ekitala ky'akutte. Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga mangi ku nsi, era ndinyweza emikono gya kabaka wa Babilooniya, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe. Kyokka ndimenya emikono gya kabaka wa Misiri, asindire mu maaso ga kabaka wa Babilooniya, ng'omuntu afumitiddwa ebiwundu eby'okumutta bw'asinda. Ndiwa amaanyi emikono gya Kabaka wa Babilooniya, naye emikono gya kabaka wa Misiri girinafuwa ne gikka. Bwe nditeeka ekitala kyange mu ngalo za kabaka wa Babilooniya n'akyolekeza ensi y'e Misiri, olwo balimanya nga Nze Mukama. Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga mangi ku nsi, kale balimanya nga Nze Mukama.” Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogwokusatu, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, gamba Kabaka wa Misiri n'abantu be bonna nti: ‘Nnaakugeraageranya ku ani nno? Ng'oli wa buyinza, era wakitiibwa nnyo! Nkugeraageranya ne Assiriya, eyali ng'omuvule ku Lusozi Lebanooni ogw'amatabi amalungi, agawa ekisiikirize; omuwanvu, ng'obusongezo bwago butuuka ne mu bire. Waaliwo amazzi kwe gwanywanga, ensulo z'amazzi agaagukuza. Zaakulukutanga okwetooloola ekifo mwe gwasimbwa, era zaatuukanga ne ku miti emirala egy'omu kibira. Olw'okuba gwafunanga bulungi amazzi, gwawanvuwa ne gugulumira okusinga emiti emirala gyonna egy'omu ttale. Amatabi gaagwo ne gaala, ne gagejja, ne gaagaagala. Ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga ne bizimba omwo ebisu byabyo, n'ensolo zonna ez'omu ttale ne zizaaliranga abaana baazo wansi w'amatabi gaagwo. Amawanga gonna amakulu ne geewogomanga mu kisiikirize kyagwo. Omuti ogwo gwali mulungi, era nga gwa maanyi. Gwalina amatabi amawanvu kubanga emirandira gyagwo gyatuukanga awali amazzi amangi. Emivule mu nnimiro ya Katonda gyali tegiyinza kuvuganya nagwo. Emiberosi tegyalina matabi genkana gaagwo. Emiti emirala gyali tegyenkana wadde amatabi gaagwo. Tewali muti mu nnimiro ya Katonda ogwali omulungi ng'ogwo. Nagufuula mulungi ogwagaagala amatabi, n'emirala gyonna mu Edeni, ennimiro ya Katonda ne gigwegombanga.’ ” “Kale Nze Mukama Afugabyonna, kyenva ŋŋamba nti omuti ogwo nga bwe guwanvuye ne gugulumira, obusanso bwagwo ne butuuka ne mu bire, ate ne gwekuluntaza olw'obuwanvu bwagwo, nze nguvuddemu, era ndiguwaayo mu mikono gy'ow'amaanyi, agubonereze olw'ebibi byagwo. Abagwira abakambwe baligutema ne baguleka awo. Amatabi gaagwo galigwa ku nsozi ne mu biwonvu. Obutabi bwagwo bulimenyekera mu myala gyonna egy'amazzi mu nsi eyo. N'ab'amawanga gonna agaali geewogoma mu kisiikirize kyagwo, baliguleka awo ne bagenda. Ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga birijja ne bibeera ku muti ogwo nga gugudde, n'ensolo zonna ez'omu ttale ziririnnyirira amatabi gaagwo. Ekyo kiriba bwe kityo, waleme kubaawo ku miti gyonna egikulira ku mabbali g'amazzi, oba ne bwe ginywa gitya amazzi ne giba gya maanyi, egiryekuluntaza olw'obugulumivu bwagyo, oba olw'okutuusa obusanso bwagyo mu bire. Naye gyonna ginaabanga gya kufa ng'abantu, ginaabanga gya kwegatta ku abo abakka emagombe mu bunnya.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ku lunaku lwe gulikkirako emagombe, ndireka amazzi ag'omu buziba bw'ennyanja okugukungubagira. Ndiyimiriza emigga ne sireka ngezi yaagyo kukulukuta. Olw'okufa kwagwo, ndireeta ekikome ku nsozi z'omu Lebanooni, n'emiti ne ngireetera okuwotookerera. Bwe ndigusuula emagombe awamu n'abo abakka mu bunnya, okuvuga kw'okugwa kwagwo kulikankanya amawanga. Emiti gyonna mu Edeni, n'emirondobe egy'omu Lebanooni egisinga obulungi era gyonna egyanywa amazzi, egyakkirira wansi mu ttaka, girisanyuka nga gugudde. Girikka nagwo emagombe awali abo abattirwa mu ntalo, abo ab'amawanga abaaguyambanga, era abaabeeranga mu kisiikirize kyagwo. “Muti ki mu egyo egy'omu Edeni ogwali gugwenkana ekitiibwa n'amaanyi? Kyokka naawe olikka emagombe wamu n'emiti gy'omu Edeni, obeere mu abo abatali bakomole, wamu n'abo abattirwa mu ntalo. Omuti ogwo ye Kabaka wa Misiri n'abantu be bonna.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Awo olwatuuka, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tandika okukungubagira kabaka wa Misiri, omugambe nti: ‘Weeyisa ng'empologoma envubuka mu mawanga naye oli ggoonya ali mu nnyanja. Otabangula amazzi n'ebigere byo, n'osiikuula emigga.’ ” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ab'amawanga amangi bwe balikuŋŋaana, ndikutega ne nkukwasa mu katimba kange. Balikusikayo ne bakuleeta ku lukalu. Ndikusuula ettale ne nkuleka awo ne ndeeta ebinyonyi n'ebisolo eby'oku nsi bikweriire. Ku nsozi, kwe nditeeka ennyama yo, ebiwonvu mbijjuze amagumba go. Ndiyiwa omusaayi gwo mu nsi gwanjaale ku nsozi, era gujjuze emigga. Bwe ndiba nkusaanyaawo, ndibikka ekifu ku ggulu, ne nziyiza emmunyeenye okwaka. Enjuba ndigibikkako ekire, n'omwezi ne gutaleeta kitangaala. Kub 6:12-13; 8:12 Ebyaka byonna eby'oku ggulu ebyakira waggulu wo, ndibizikiriza, ensi yo ngireke mu kizikiza.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. “Ndyeraliikiriza amawanga mangi, bwe ndituusa amawulire ag'okuzikirizibwa kwo mu nsi z'otowuliranganako. Kye nkutuusizzaako, kirisamaaliriza amawanga mangi, ne bakabaka baago balikankana olw'okutya, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe. Ku lunaku lw'oligwirako, abantu bonna balikankana, olw'okutiiririra obulamu bwabwe.” Mukama Afugabyonna, agamba kabaka wa Misiri nti: “Ekitala kya Kabaka wa Babilooniya kirikutuukako ggwe. Ndireka abaserikale ab'amaanyi ab'omu mawanga agasingayo obukambwe, ne batta abantu bo bonna. Abantu bo n'ebintu byo ebikweyagaza, balibizikiriza byonna. Ndizikiriza ensolo zo zonna buli awali amazzi amangi. Tewaliba kigere kya bantu wadde ebinuulo by'ensolo ebiriddamu okugatabangula. Ndireka amazzi gaabwe ne gateeka emigga gyabwe ne gikulukutiramu amazzi amayonjo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. Bwe ndifuula Misiri amatongo agazise, ne nzikiriza bonna abagirimu, olwo balimanya nga Nze Mukama. Luno lwe luyimba lwe baliyimba okukungubaga. Abakazi mu mawanga banaaluyimbanga okukungubagira Misiri, n'abantu baayo bonna. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.” Ku lunaku lw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kungubagira nnamungi w'abantu b'e Misiri n'ab'ensi endala ez'amaanyi, obasuule emagombe wamu n'abo abakka mu bunnya. Obagambe nti: ‘Ani gwe musinga mmwe obulungi mu ndabika? Muserengete muteekebwe wamu n'abatali bakomole.’ Abantu b'e Misiri balifiira wamu n'abo abattirwa mu ntalo, abantu baayo abangi basanjagibwe n'ekitala. Abazira ennyo ab'amaanyi n'abaalwanira ku ludda lwa Misiri, balyaniriza Abamisiri emagombe nga bagamba nti: ‘Abatali bakomole abattirwa mu lutalo, baabano baserengese, basirise, bagalamidde wano.’ Assiriya ali eyo n'abafu be bonna. Amalaalo gaabwe gamwetoolodde. Bonna battibwa, baafiira mu lutalo. Amalaalo gaabwe gateekeddwa awakomererayo ku ntobo y'emagombe. Abaserikale be baziikiddwa okwetooloola amalaalo ge. Bonna bafudde, battiddwa mu lutalo. Bwe baali bakyali balamu baaleetanga entiisa ku nsi. “Elamu ali eyo n'abaserikale be bonna, okwetooloola amalaalo ge. Bonna baafa nga battiddwa mu lutalo. Bakkirira emagombe nga si bakomole. Bwe baali bakyali balamu, baaleetanga entiisa ku nsi, naye kaakano bali mu nsonyi wamu n'abo abakkiridde mu bunnya. Elamu bamwalidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa; ali wamu n'ababe bonna ng'amalaalo gaabwe gamwetoolodde. Bonna battiddwa mu lutalo nga si bakomole. Bwe baali bakyali balamu, baaleetanga entiisa ku nsi, naye kaakano bali mu nsonyi wamu n'abo abakkiridde mu bunnya. Ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa. “Ensi Meseki ne Tubali ziri eyo, nga zeetooloddwa amalaalo g'abaserikale baazo. Bonna abo abatali bakomole battiddwa mu lutalo, naye bwe baali bakyali balamu baaleetanga entiisa ku nsi. Tebaaziikibwa wamu na bazira abaafa nga si bakomole, abakkirira emagombe nga balina ebyokulwanyisa byabwe, era ng'ebitala byabwe biteekeddwa emitwetwe waabwe, n'engabo zaabwe nga ziteekeddwa ku magumba gaabwe. Abazira abo baali ba maanyi, nga batiisa abantu ku nsi “Kale naawe Misiri olibetenterwa wamu n'abatali bakomole abattirwa mu lutalo. “Edomu ali eyo ne bakabaka be n'abakungu be. Baali batabaazi ba maanyi, naye kaakano bali magombe wamu n'abatali bakomole abattirwa mu lutalo. “Abakungu b'omu bukiikakkono bonna bali eyo, n'Abasidoni bonna. Baserengeseeyo n'abo abattiddwa. Newaakubadde baatiisanga abantu olw'amaanyi gaabwe, kaakano bali mu nsonyi era bafudde nga si bakomole. Bali wamu n'abo abattibwa mu ntalo. Bali mu nsonyi wamu n'abo abakka mu bunnya. “Kabaka wa Misiri bw'alibalaba, alyerabira ennaku y'abantu be abaafa.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. “Nateekawo kabaka wa Misiri okutiisa abantu ku nsi. Kyokka ye n'abaserikale be bonna, balittibwa ne bagalamizibwa wamu ne bonna abatali bakomole, abattibwa mu lutalo.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, yogera n'abantu b'eggwanga lyo, obategeeze ekibaawo bwe mbaako ensi gye nsindiseemu olutalo: abantu ab'omu nsi eyo beerondamu omu ku bo, ne bamuteekawo okuba omukuumi. Bw'alaba abalabe nga bajja, afuuwa ekkondeere n'alabula abantu. Kale buli awulira ekkondeere nga livuga n'atalabuka, abalabe ne bajja ne bamutta, olwo ye okuttibwa, gunaabanga musango gwe. Ye okuttibwa, gunaabanga musango gwe, kubanga aba awulidde ekkondeere nga livuga n'atafaayo kulabuka. Aba kufaayo n'alabuka, yandiwonyezza obulamu bwe. Kyokka omukuumi bw'alaba abalabe nga bajja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, abalabe ne bajja, ne babaako gwe basaanyaawo ng'ali mu bibi bye, okuttibwa kwe ndikuvunaana mukuumi oyo. “Kaakano, ggwe omuntu, naawe nkutaddewo okuume ab'Eggwanga lya Yisirayeli. N'olwekyo bw'owuliranga bye nkugamba, ng'obalabula ku lwange. Bwe ŋŋamba omubi nti ‘Ggwe omubi, ojja kufa’, ggwe n'otoyogera okumulabula ave mu mpisa ze embi, omuntu oyo omubi alifiira mu bibi bye, kyokka okufa kwe ndikuvunaana ggwe. Naye bw'olabula omubi okukyuka ave mu mpisa ze embi, n'atakyuka kuzivaamu, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba owonyezza obulamu bwo.” “Ggwe omuntu, gamba ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti: Mugamba nti: ‘Tuzitoowereddwa ebibi byaffe n'ensobi zaffe, bitumazeemu amaanyi. Kale tunaalema tutya okufa!’ Bagambe nti: ‘Nze Mukama Afugabyonna, nga bwe ndi omulamu, sisanyukira kufa kwa mwonoonyi, wabula njagala akyuke ave mu mpisa ze embi, abe mulamu. Kale, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mukyuke, mukyuke muve mu mpisa zammwe embi. Lwaki mwagala mufe?’ “Kaakano, ggwe omuntu, gamba abantu bo Abayisirayeli nti omuntu omulungi bw'akola ebibi, ebirungi bye yakola edda tebirimuwonya. N'omuntu omubi bw'akyuka n'alekayo okukola ebibi, talibonerezebwa. Era n'omuntu omulungi bw'atandika okwonoona, taliwonya bulamu bwe. Bwe nkakasa omuntu omulungi nti aliba mulamu, kyokka ne yeesiga obulungi bwe obw'edda, n'atandika okukola ebibi, tewaliba kijjukirwa ku birungi bye yakola, wabula mu bibi by'akoze mw'alifiira. Era bwe ndabula omuntu omubi nti ajja kufa, kyokka n'akyuka n'alekera awo okwonoona, n'akola ebyo ebituufu by'alagirwa okukola, okugeza, bw'azzaayo omusingo gwe yaggya ku muntu gwe yawola, oba bw'akomyawo kye yabba, n'agoberera amateeka agawa obulamu, nga taliiko kibi ky'akola, talirema kusigalawo nga mulamu. Alisonyiyibwa ebibi byonna bye yakola, n'aba mulamu, kubanga akoze ebyo ebituufu by'alagirwa okukola. “Naye abantu b'Eggwanga lyo bagamba nti nze Afugabyonna, bye nkola, si bya bwenkanya, sso nga bo bye bakola bye bitali bya bwenkanya. Omuntu omulungi bw'akyuka n'ava ku kukola ebirungi, n'akola ebibi, alifa olw'okukola ebibi ebyo. Omubi bw'akyuka n'alekayo okukola ebibi, n'akola ebyo ebituufu by'alagirwa okukola, aliwonya obulamu bwe olw'okukola bw'atyo. Naye mugamba nti nze, Afugabyonna bye nkola si bya bwenkanya. Mmwe Abayisirayeli, buli muntu ndimusalira omusango, nga nsinziira ku bikolwa bye.” Awo olwatuuka, ku lunaku olwokutaano olw'omwezi ogw'ekkumi, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, omu eyali awonyeewo mu Yerusaalemu, n'ajja n'antegeeza nti Ekibuga Yerusaalemu kikubiddwa ne kiwambibwa. Eggulolimu ng'oyo awonyeewo tannajja, nawulira ng'amaanyi ga Mukama gankutteko. Enkeera oyo awonyeewo we yantuukirako, Mukama yali amaze okunsumulula akamwa, nga nsobola okwogera, nga sikyali nga kasiru. Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, abantu abali mu bibuga ebyafuuka amatongo, eby'omu nsi ya Yisirayeli bagamba nti: ‘Oba nga Aburahamu eyali omuntu omu, ensi eno yamuweebwa ebe yiye, kale alabisa ffe abangi! Ddala etuweereddwa ebe yaffe.’ “Kale bategeeze, Nze Mukama Afugabyonna, kye mbagamba nti: ‘Mulya ennyama ekyalimu omusaayi. Musinza ebitali Katonda, era mutemula abantu. Olwo ne mulowooza nti ensi eyo eriba yammwe?’ Mwesiga byakulwanyisa byammwe. Mukola ebyenyinyalwa. Buli omu ayenda ne muka munne. Olwo ne mulowooza nti ensi eyo eriba yammwe? “Bagambe nti Nze Mukama Afugabyonna mbakakasa nti nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bibuga ebyafuuka amatongo, balittibwa mu lutalo. Abo abali mu byalo aweetadde, ndibawaayo ne baliibwa ensolo enkambwe, n'abo abali mu bigo ebigumu eby'okwerindiramu, ne mu mpuku, balifa endwadde. Ndifuula ensi eyo amatongo era ettale omutali kantu, era okwekulumbaza kw'obuyinza bwayo, kulikoma. Ensozi z'omu Yisirayeli zirifuuka ddungu, zibuleko n'omu aziyitamu. Bwe ndibonereza abantu olw'ebibi byabwe, n'ensi ne ngifuula amatongo era ettale omutali kantu, olwo balimanya nga Nze Mukama.” “Ggwe omuntu, abantu bo bakwogerako nga basisinkanye ku mabbali g'ebisenge ne ku miryango gy'ennyumba zaabwe, ne bagambagana nti: ‘Mujje baana battu, tugende tuwulire Mukama ky'atugamba.’ Ne bajja kinnabulungi, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange, ne bawulira by'obagamba, naye nga tebajja kubikola, kubanga balaga okwagala kungi, naye mu bigambo bugambo, emitima gyabwe nga gyemalidde ku kufuna magoba ag'okuwampanya. Ggwe bakulaba ng'omuntu abayimbira oluyimba olulungi mu ddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira by'obagamba, naye ne batabikola. Naye by'obagamba bwe birituukirira, ate nga tebirirema kutuukirira, olwo ne balyoka bamanya nga mu bo mubaddemu omulanzi.” Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, langa eby'akabi ebirituuka ku bakulembeze ba Yisirayeli, obategeeze, Nze Mukama Afugabyonna, kye mbagamba nti: Zibasanze mmwe abasumba ba Yisirayeli, abeeriisa mwekka, ne mutaliisa ndiga. Munywa amata gaazo, ne mwambala engoye ezikolebwa mu byoya byazo, ne mutta ezisingamu obusava, ne mulya, naye nga temuzirabirira. Ennafu temuzirabiridde ziddemu maanyi, endwadde temuzijjanjabye ziwone, ezimenyese temuzisibye wamenyese ziyunge, temukomezzaawo ezo eziwabye, wadde okunoonya eyo ebuze. Naye muzifugisa maanyi na bukambwe, ne zisaasaana olw'obutabaako musumba, ebisolo eby'omu ttale ne bizitta, ne bizeeriira. Endiga zange ne zibungeetera ku nsozi zonna, ne ku buli kasozi akawanvu. Ddala zaasaasaanira mu nsi yonna, ne watabaawo azinoonya, wadde azibuuliriza gye ziraze. “Kale mmwe abasumba, muwulire Nze Mukama kye mbagamba. Nze Mukama Afugabyonna, ndayira nti nga bwe ndi omulamu, musaanye muwulire bye ŋŋamba. Endiga zange zaafuuka muyiggo, era zaafuuka mmere ya buli kisolo kikambwe eky'omu ttale, olw'obutabaako musumba. Abasumba be naziteekako, tebazinoonya, naye beefaako bokka ne batalabirira ndiga zange. Kale mmwe abasumba, muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba. Nze Mukama Afugabyonna, nnangirira nti ndi mulabe wammwe, mmwe abasumba. Nja kubaggyako endiga zange, muleme kwongera kukola gwa kuzirabirira, era muleme kuddamu kwerabirira mwekka. Ndiwonya endiga zange, ne mutazikavvula nga muzifuula ekyokulya kyammwe.” “Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne mbuuliriza gye ziri. Ng'omusumba bw'abuuliriza ku ggana lye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, nange bwe ntyo bwe ndibuuliriza ku ndiga zange, era ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire n'ekizikiza. Ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi eyaazo. Ndiziriisiza ku nsozi z'omu Yisirayeli, ne ku mbalama z'emigga, ne mu bifo byonna eby'omu nsi eyo ebibeeramu abantu. Ndiziriisiza mu malundiro amalungi, ku nsozi empanvu ez'omu Yisirayeli. Mu malundiro ago amalungi mwe zirigalamira, ne ziriira mu malundiro g'omu Yisirayeli ag'omuddo omugimu. Nze nzennyini nze ndiriisa endiga zange, ne nzizuulira ekifo we ziwummulira. Nze Mukama Afugabyonna njogedde. “Ndinoonya ezo ezibuze, ne nkomyawo ezo eziwabye, ne nsiba ezo ezimenyese, ne nzijanjaba ezo ezirwadde. Naye ezo ensava era ez'amaanyi, ndizikuuma, era ne nziriisa mu bwenkanya. “Kale mmwe eggana lyange Abayisirayeli, Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba nti ndisala omusango ogwa buli omu ku mmwe. Mmwe endiga ennume n'embuzi ennume, temumatira okulya omuddo omulungi naye mussaako n'okulinnyirira ogwo gwe mutalidde. Bwe mumala okunywa amazzi amayonjo, musiikuula ago agasigaddewo, endiga zange endala ne zirya omuddo gwe mulinnyiridde, ne zinywa amazzi ago, ge musiikuudde n'ebigere byammwe. “Kale kaakano, Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba nti nze nzennyini ndisala omusango wakati w'endiga engevvu n'enkovvu, kubanga musindisa embiriizi n'ebibegabega ezo endwadde, ne muzitomeza amayembe gammwe, okutuusa lwe muzigoba mu ggana. N'olwekyo nditaasa endiga zange, ne zitayigganyizibwa. Ndisala omusango ogwa buli emu. Ndiziteerawo omusumba omu ali ng'omuweereza wange Dawudi. Oyo ye alizirunda, n'aba omusumba waazo. Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuweereza wange, ali nga Dawudi, n'aba omukulembeze waabwe. Nze Mukama, njogedde. Era ndikola nabo endagaano ey'emirembe. Ndimalawo mu nsi eyo ensolo enkambwe, endiga zange zisobolenga okubeera mu ttale, era n'okwebaka mu bibira nga tezirina kye zitya. “Ndibawa omukisa, era ne babeeranga mu bifo ebyetoolodde olusozi lwange olutukuvu. Nnaabatonnyesezanga enkuba ennungi mu biseera byayo mwe bagyetaagira. Emiti ginaabalanga ebibala, n'ennimiro zinaayezanga ebirime, era n'abantu banaabeeranga mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya. Bwe ndimala okukutula enjegere ezisibye abantu bange, ne mbawonya abo ababafuga obuddu, olwo balimanya nga Nze Mukama. Ab'amawanga amalala tebaliyongera kubayigganya, n'ensolo enkambwe ez'omu nsi eyo teziribakavvula. Balibeera mirembe nga tewali abatiisa. Ndibagimusiza ennimiro zaabwe, ne mmalawo enjala mu nsi eyo. Ab'amawanga amalala tebaliddamu kubasekerera. Balimanya nga nze, Mukama Katonda waabwe, ndi wamu nabo, era nga bo, ab'Eggwanga lya Yisirayeli, be bantu bange. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. “Mmwe endiga zange, eggana lye ndiisa, muli bantu bange, nze ndi Katonda wammwe,” Mukama Katonda bw'atyo bw'agamba. Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: 1:11-12; Ob 1-14; Mal 1:2-5 “Ggwe omuntu, amaaso go goolekeze Olusozi Seyiri, olange eby'akabi ebirirutuukako. Olutegeeze, Nze Mukama, Katonda bye ndugamba nti: Ggwe Olusozi Seyiri, ndi mulabe wo. Ndigolola omukono gwange ne nkufuula matongo. Ndizisa ebibuga byo, naawe oliba matongo. Olwo olimanya nga Nze Mukama, kubanga wakuuma obulabe ku Bayisirayeli, n'obawaayo okuttibwa mu lutalo mu kaseera kaabwe akazibu, lwe nababonereza olw'ebibi byabwe. Kale nno mbakakasa nti Nze Mukama Afugabyonna nga bwe ndi omulamu, mbateekeddeteekedde okuttibwa, era temulikuwona. Nga bwe mutaakyawa kutta bannammwe, nammwe mulittibwa. Bwe ntyo ndifuula Olusozi Seyiri amatongo, mmalewo abakwata ekkubo eriyita ku lwo nga bagenda oba nga bakomawo. Ensozi zo ndizibikka emirambo gy'abantu bo abattiddwa. Abattiddwa mu lutalo balijjuza obusozi bwo, n'ebiwonvu n'emigga. Ndikufuula amatongo ag'olubeerera, era ebibuga byo tebiriddayo kubaamu bantu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama. “Wagamba nti: ‘Amawanga ago gombi n'ensi ezo zombi, Yisirayeli ne Buyudaaya, biriba byange, naffe tubyefuge, wadde nga Mukama ye abirimu.’ Kale nkukakasa nti nze, Mukama Afugabyonna, nga bwe ndi omulamu, ndikusasula olw'obusungu bwo n'obuggya bwo era n'obukyayi bw'olina ku bantu bange, era balimanya nga nkubonereza lw'ebyo bye wakola ku bo. Kale olimanya nga Nze Mukama, nawulira bye wayogera n'obunyoomi, ng'ogamba nti ensozi za Yisirayeli zirekeddwawo ttayo, era nti ziweereddwa ggwe ozeefuge. Era mpulidde ebigambo bye mwongedde okunjogerako nga munneewaanirako.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndikufuula amatongo, ensi yonna esanyuke, nga naawe bwe wasanyuka nga Yisirayeli, ensi yange, efuuse amatongo. Olusozi Seyiri, n'ensi ya Edomu yonna w'efa yenkana erifuulibwa matongo. Kale balimanya nga Nze Mukama. “Era ggwe omuntu, langirira ensozi z'omu Yisirayeli ozigambe nti: ‘Mmwe ensozi za Yisirayeli, muwulire ebyo, Mukama by'agamba, Mukama Afugabyonna agamba nti: Abalabe bo ggwe Yisirayeli bakwewaaniddeko ne bagamba nti: Otyo, kakubye! Kaakano ensozi ezo ez'edda zaffe, tuzeefunidde!’ “Kale langa, olangirire ekyo, Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba. Abantu ab'amawanga agabeetoolodde baabafuula matongo, ne babanyaga okuva ku njuyi zonna, mufuuke bitundu bya mawanga ago, era ne babanyooma nga babavuma. N'olwekyo muwulire ebyo, Nze Mukama Afugabyonna bye ŋŋamba mmwe ensozi z'omu Yisirayeli, nammwe obusozi, obugga n'obuwonvu bwamu, nammwe ebibuga ebyalekebwawo nga munyaguluddwa era ebisekererwa amawanga amalala, agabyetoolodde. “Nze, Mukama Afugabyonna, njogedde nga nsunguwalidde nnyo ab'amawanga agaliraanyeewo, naddala erya Edomu, abeegabira ensi yange ne bagifuula eyaabwe nga bajjudde essanyu n'obunyoomi olw'okugifuula omunyago! “Kale langa ebifa ku nsi ya Yisirayeli, otegeeze ensozi n'obusozi, obugga n'ebiwonvu, ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nga nnina obusungu n'obuggya, kubanga byaswazibwa ab'amawanga amalala. Nze Mukama Afugabyonna ndayira, nti mazima ab'amawanga agabeetoolodde be baliswazibwa. Naye mmwe ensozi z'omu Yisirayeli, mulibeerako emiti, ne gisuula amatabi gaagyo, ne gibalira abantu bange Abayisirayeli ebibala, kubanga banaatera okudda. Mumanye nga nze ndi ku ludda lwammwe, era nja kufaayo okulaba nga mulimibwa era nga musigibwamu ensigo. Ndyaza abantu ababeera mu mmwe, Eggwanga lya Yisirayeli lyonna. Ebibuga biribaamu abantu, era buli kifo ekyafuuka amatongo, kirizimbibwa buggya. Omuwendo gw'abantu ababeera mu mmwe era n'ogw'ensolo, ndigwongerako obungi. Abantu baliba bangi n'okusinga abaaliwo mu mmwe edda, era balizaala abaana bangi. Ndibafuula mmwe ensi ebeerekamu, n'okusinga we mwasookera okusengebwamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama. Ndireka abantu bange Abayisirayeli ne bababeeramu, ne muba ensi eyaabwe ku bwabwe, era temuliddayo kubattira baana baabwe. “Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Abantu bagambe nti ggwe Yisirayeli, oli nsi etta abantu baayo n'efiiriza eggwanga lyayo.’ Naye okuva kati toliddayo kutta bantu, wadde okufiiriza eggwanga lyo. Bwe ntyo bwe ŋŋamba nze, Mukama Afugabyonna. Sirikuleka kwongera kuwulira ng'amawanga amalala gakusunga, wadde ng'abantu bakuvuma, era toliddamu kufiiriza ggwanga lyo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.” Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bwe baali mu nsi yaabwe, baagyonoonera mu ngeri gye beeyisangamu, ne mu bikolwa byabwe. Engeri gye beeyisangamu, nagirabanga nga njama ng'ebiwero ebikozeseddwa omukazi ali mu biseera bye ebya buli mwezi. Nabamalirako obusungu bwange, olw'obutemu bwe baali bakoledde mu nsi eyo, era kubanga baali bagyonoonye nga basinza ebitali Nze Katonda. Nabasalira omusango olw'engeri gye baali beeyisaamu, n'olw'ebikolwa byabwe, ne mbasaasaanya mu mawanga mangi. Mu buli ggwanga gye baagendanga, baavumisanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga abantu baaboogerangako nti: ‘Bano bantu ba Lubaale gwe bayita Mukama, kyokka bavudde mu nsi ye!’ Ne nnumirwa erinnya lyange ettukuvu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli lye baali bavumisizza mu mawanga gye baagenda. “Kale kaakano tegeeza ab'Eggwanga lya Yisirayeli ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Kye ŋŋenda okukola, sikikola ku lwammwe, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, naye ku lwa linnya lyange ettukuvu, lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda. Ndiraga amawanga erinnya lyange eryekitiibwa bwe liri ettukuvu, mmwe lye mwavumaganyisa mu go. Olwo amawanga ago galimanya nga Nze Mukama. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. Bye ndikolera mmwe, bye birigalaga bwe ndi omutuukirivu. Ndibakuŋŋaanya mmwe, ne mbaggya mu buli nsi ne mu buli ggwanga, ne mbakomyawo mu nsi eyammwe ku bwammwe. Era ndibamansirako amazzi amayonjo, ne muba balongoofu nga mbatukuzza ne mbaggyako obujama bwonna, n'okusinza ebitali Nze Katonda. “ ‘Era ndibawa omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya mu mmwe. Ndiggya mu mmwe omutima gwammwe omukakanyavu ng'ejjinja, ne mbateekamu omutima omugonvu era omuwulize. Ndibateekamu omwoyo ogwange era ndifaayo okulaba nga mukuuma amateeka gange gonna, era nga mukola byonna bye mbalagira. Olwo munaabeeranga mu nsi gye nawa bajjajjammwe. Munaabanga bantu bange, nze ne mba Katonda wammwe. Era ndibaggyako buli ekibafuula abatali balongoofu. Ndibasobozesa okweza eŋŋaano n'eba nnyingi, ne mutaddayo kulumbibwa njala. Ndibawa ekyengera, eky'ebibala eby'oku miti n'eby'omu nnimiro, mulemenga kuba na njala ya kubaswaza mu mawanga malala. Olwo munajjukiranga enneeyisa yammwe eteri nnungi n'ebikolwa byammwe ebibi, ne mwetamwa olw'ebibi byammwe n'olw'ebikolwa ebyenyinyalwa bye mwakola. Mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, njagala mumanye nti sikola kino ku lwammwe. Njagala mukwatibwe ensonyi, muswale, olw'ebyo bye mwakolanga.’ Nze, Mukama Afugabyonna, njogedde.” Awo Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Bwe ndibatukuza ne mbaggyako ebibi byammwe byonna, ndibaleka ne muddamu okubeeranga mu bibuga byammwe, n'okuzimba obuggya buli kintu ekyafuuka amatongo. Buli eyayitanga ku nnimiro zammwe, yalabanga nga zizise zifuuse nsiko, naye ndibaleka mmwe ne muddamu okuzirima. Buli muntu aligamba nti: ‘Ensi eno eyali erekeddwawo ettayo, efuuse ng'ennimiro y'e Edeni, n'ebibuga ebyali birekeddwawo ne bizika, kati bikoleddwako enkomera, abantu ne babibeeramu!’ Kale olwo ab'amawanga agabeetoolodde abaliba basigaddewo, balimanya nga nze, Mukama, nze nzimbye obuggya ebifo ebyamenyebwawo, era nze nsimbye ennimiro ezaalekebwa awo. Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndiddamu okukkiriza ab'Eggwanga lya Yisirayeli okunsabanga mbeeko kye mbakolera, era ndireka abantu ba Yisirayeli ne beeyongera okuba abangi ng'eggana ly'endiga. Ebibuga ebyalekebwa awo ne bizika, birijjula abantu, nga Yerusaalemu bwe kyajjulanga endiga ez'okutambira mu mbaga zaakyo ezaalagirwa. Olwo balimanya nga Nze Mukama.” Awo ne mpulira ng'amaanyi ga Mukama gankutteko, Mwoyo we n'antwala n'anzisa mu kiwonvu wakati, ekiwonvu nga kijjudde amagumba. N'anneetoolooza ekiwonvu ng'ampisa mu magumba. Ne ndaba nga gaali mangi nnyo, nga gabunye ekiwonvu. Era ne ndaba nga gaali makalu nnyo. N'ambuuza nti: “Ggwe omuntu, amagumba gano gayinza okufuna obulamu?” Ne nziramu nti: “Ayi Mukama Afugabyonna, ggwe omanyi.” N'aŋŋamba nti: “Langa ogambe amagumba gano amakalu, gawulire ekyo Nze Mukama kye ŋŋamba. Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba amagumba gano nti: ‘Nja kubateekamu omukka, mube balamu. Era nja kubateekako ebinywa n'ennyama, mbabikkeko n'olususu, mbateekemu omukka, mube balamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.’ ” Awo ne nnanga, nga bwe nalagirwa. Awo bwe nali nga nnanga, ne wabaawo eddoboozi. Amangwago ne wabaawo okukankana kwe nsi, amagumba ne gatandika okwegattagatta, eggumba ku linnaalyo. Bwe neekaliriza amaaso, ne ndaba ng'amagumba gazzeeko ebinywa n'ennyama, n'olususu ne lugabikkako kungulu. Naye nga temuli mukka mu mibiri. Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, langa, ogambe empewo nti ‘Ggwe empewo, Mukama Afugabyonna, akulagidde ove mu buli nsonda, ojje ofuuwe ku mirambo gya bano abattibwa, baddemu okuba abalamu.’ ” Awo ne nnanga nga bwe yandagira. Omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira ku magulu gaabwe, nga baweramu eggye eddene. Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bali ng'amagumba gano. Bagamba nti: ‘Tuli ng'eŋŋumbagumba ezikaze. Tetukyalina kye tusuubirayo gye bujja. Tuzikiridde biwedde!’ Kale langa, obagambe nti: ‘Mukama Afugabyonna, agamba nti: Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbaggyamu, ne mbazzaayo mu nsi ya Yisirayeli. Bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbaggyamu, mulimanya nga Nze Mukama. Nditeekamu Mwoyo wange mu mmwe ne mulamuka, ne mbateeka mu nsi eyammwe ku bwammwe. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, Nze nkyogedde, era nga mmaze n'okukituukiriza, Nze Mukama Afugabyonna.’ ” Awo Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ddira omuggo, oguwandiikeko nti: ‘Gwa Yuda ne Bayisirayeli banne.’ Oddire omuggo omulala, owandiikeko nti: ‘Gwa Yosefu, ye Efurayimu, ne Bayisirayeli banne.’ Ogikwatire wamu, gibe ng'omuggo gumu mu ngalo zo. Abantu b'eggwanga lyo bwe banaakusaba okubannyonnyola kino kye kitegeeza, ojja kubagamba nti Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndiddira omuggo gwa Yosefu ogukwatiddwa Efurayimu n'ebika bya Bayisirayeli banne, nguteeke wamu n'ogwa Yuda, gyombi ngifuule omuggo gumu, ngukwate mu ngalo zange.’ “Emiggo egyo gy'owandiikako bwe ginaaba gikyali mu ngalo zo, abantu nga bagiraba, obagambe nti Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndiggya Abayisirayeli mu mawanga gye baagenda, ne mbakuŋŋaanya ne mbakomyawo mu nsi eyaabwe ku bwabwe. Ndibagatta ne mbafuula ggwanga limu mu nsi eyo, ku nsozi z'omu Yisirayeli. Baliba ne kabaka omu alibafuga bonna, era tebaliddayo kwawulwamu kuba mawanga abiri. Tebalyongera kwefuula batali balongoofu na kusinza bitali Nze Katonda, n'okweyonoona nga bakola ebyenyinyalwa, wadde ebintu ebirala ebikyamu. Naye ndibaggya mu nneeyisa yaabwe mwe baakoleranga ebibi, ne mbatukuza. Olwo banaabeeranga bantu bange, Nze ne mba Katonda waabwe. Dawudi omuweereza wange, ye anaabanga kabaka waabwe. Bonna banaabeeranga n'omusumba omu. Banaakolanga bye mbalagira, era banaakwatanga amateeka gange. Banaabeeranga mu nsi gye nawa Yakobo omuweereza wange, ensi bajjajjaabwe mwe baabeera. Balibeera omwo, bo n'abaana baabwe ne bazzukulu baabwe, emirembe gyonna. Era Kabaka Dawudi omuweereza wange ye anaabafuganga emirembe gyonna. Era ndikola nabo endagaano ey'olubeerera, ebakakasa nga baliba mirembe. Ndibanyweza ne mbawa okwala, ne nteeka Essinzizo lyange wakati mu bo emirembe gyonna. Era n'Eweema yange eneebanga mu bo. Nnaabanga Katonda waabwe, bo ne baba bantu bange. Bwe nditeeka Essinzizo lyange wakati mu bo emirembe gyonna, olwo amawanga galimanya nga nze, Mukama, nze nalonda Yisirayeli okuba abantu abange ku bwange.’ ” Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, amaaso go goolekeze Googi, omufuzi wa Roosi ne Meseki ne Tubali mu nsi y'e Magogi, olange eby'akabi ebirimutuukako. Ogambe nti: Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ggwe Googi, omufuzi wa Roosi ne Meseki ne Tubali, nze ndi mulabe wo.’ Ndikukwata ku nkoona ne nkutunuza gye ndi, ne nteeka amalobo mu mba zo, ne nkuwalula, ggwe n'eggye lyo lyonna, embalaasi n'abasajja abazeebagala, bonna nga babagalidde bulungi ebyokulwanyisa, eggye eddene, nga balina obugabo obutono n'engabo ennene, era nga bonna bakutte ebitala. Abaperusi, n'Abakuusi, n'Abapuuti, baliba wamu nabo, bonna nga balina engabo n'enkuufiira ez'ekyuma. Abaserikale bonna abava mu nsi Gomeri ne Beti Tagaruma ewala mu bukiikakkono, n'abava mu mawanga amalala mangi, bonna baliba naawe. “Weetegeke, obe nga weeteeseteese n'amagye go gonna agakukuŋŋaaniddeko, era obe omukuumi waago. Ekiseera kiwanvu bwe kiriyitawo, olirambulwa. Bwe waliyitawo emyaka, olirumba ensi ya Yisirayeli eyakosebwa ennyo olutalo. Yalekebwa awo ng'efuuse matongo okumala ebbanga ggwanvu, naye kaakano, abantu baamu baakomezebwawo nga baggyibwa mu mawanga mangi, era babeera mirembe ku nsozi z'ensi yaabwe eyo nga tebalina kye batya. Kale nno ggwe n'eggye lyo n'ab'amawanga amangi abali naawe, mulirumba nga kibuyaga, ne mubikka ensi eyo ng'ekire bwe kibikka.” Mukama Afugabyonna agamba Googi nti: “Olunaku olwo bwe lulituuka, olifuna ebirowoozo ebibi, n'okola entegeka ez'enkwe. Oligamba nti: ‘Nja kugenda nnumbe ensi erimu ebyalo ebitazimbiddwako bigo. Nja kulumba abo abateredde emirembe nga tebaliiko kabi ke beekengera, era nga tebalinaawo ntegeka yonna ey'okwerinda.’ Olinyaga ne weefunira omunyago, mu bifo ebyali birekeddwawo ne bizika, kaakano ebirimu abantu abaakuŋŋaanyizibwa ne baggyibwa mu mawanga, abafunye amagana, era ababeera wakati w'ensi yonna. Abantu b'e Seeba ne Dedani, n'abasuubuzi b'e Tarusiisi n'ebifo byayo byonna, abasuubula ebingi, n'abasuubula ebitono, balikubuuza nti: ‘Ozze kunyaga munyago? Okuŋŋaanyizza eggye lyo, okole omuyiggo gwa munyago? Ojjiridde kufuna ffeeza na zaabu, na kutwala bintu na nsolo, oweze omunyago mungi?’ “Kale ggwe omuntu, langa ogambe Googi nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba nti: Ku lunaku olwo abantu bange Abayisirayeli bwe baliba batebenkedde mirembe, olimanya. Oliva eyo gy'obeera ewala mu bukiikakkono, n'ojja n'eggye ddene era ery'amaanyi, ery'abaserikale abava mu mawanga amangi, bonna nga beebagadde embalaasi, olumbe abantu bange Abayisirayeli ng'oli ng'ekire ekibisse ensi. Ekiseera bwe kirituuka, ndikutuma n'olumba ensi yange, amawanga galyoke gammanye, bwe galiraba bwe nkozesezza ggwe Googi okulaga bwe ndi Omutuukirivu. Ggwe wuuyo gwe nayogerako edda, nga mpita mu baweereza bange abalanzi ba Yisirayeli, bwe baalanga okumala emyaka mingi nti ndikusindika okubalumba.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ku lunaku olwo Googi lw'alirumba ensi ya Yisirayeli, ndisuukiira olw'obusungu. Nga nzijudde obuggya olw'abantu bange era n'obusungu obubuubuuka, nnangirira nti ku lunaku olwo, walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi mu nsi ya Yisirayeli. Ebyennyanja eyo mu nnyanja n'ebinyonyi ebibuuka mu bbanga, n'ebisolo eby'omu ttale, n'ebintu byonna ebyewalula, ebyewalulira ku ttaka, n'abantu bonna abali ku nsi birikankanira wamu olw'okutya kubanga ntuuse. Ensozi zirisuulibwa wansi, n'ebifo eby'okubuserengeto birigwa, na buli kigo kirigwa ku ttaka. Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti, ndiyita abakutte ebitala bave mu nsozi zange zonna, bajje balwanyise Googi oyo. N'abasajja b'omu ggye lye, balitemagana ebitala. Ndikozesa kawumpuli n'okuyiwa omusaayi, mmubonereze. Era ndimuyiwako, ye n'eggye lye n'amawanga amangi agali naye, nnamutikkwa w'enkuba, omuli amayinja g'omuzira n'olunyata lw'omuliro, n'obuganga ng'obw'ebibiriiti. Bwe ntyo ndiraga amawanga amangi bwe ndi oweekitiibwa era omutuukirivu. Olwo balimanya nga Nze Mukama.” Kale ggwe omuntu, langa eby'akabi ebirituuka ku Googi, ogambe nti: “Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndi mulabe wo, ggwe Googi omufuzi wa Roosi, Meseki ne Tubali. Ndikukwata ku nkoona ne nkukyusa, ne nkukunguzza okukuggya ewala mu bukiikakkono, ne nkutuusa ku nsozi z'omu Yisirayeli. Omutego gwo ogw'obusaale gw'okutte mu mukono gwo ogwa kkono, ndigukuba ne gugwa, ne nkusuuza n'obusaale bw'okutte mu mukono gwo ogwa ddyo. Ggwe n'eggye lyo lyonna n'abantu abalala abali naawe, muligwa ku nsozi z'omu Yisirayeli, ne mbagabula eri ebinyonyi ebya buli ngeri n'ebisolo eby'omu ttale, bibeekavvulire. Mulifiira mu ttale aweereere, kubanga Nze, Mukama Afugabyonna, Nze njogedde. Ndikoleeza omuliro gwokye Magogi, n'abo bonna ababeera mu bizinga nga tebaliiko kabi ke beekengera. Olwo balimanya nga Nze Mukama. Ndimanyisa abantu bange Abayisirayeli bwe ndi Omutuukirivu, era siriddayo kuvumibwa. Olwo amawanga galimanya nga Nze Mukama, Omutuukirivu wa Yisirayeli.’ ” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Olunaku lwe njogeddeko terulirema kubaawo. Abantu ababeera mu bibuga bya Yisirayeli, balifuluma ne bakuŋŋaanya ebyokulwanyisa ebirekeddwa awo, ne babifuula enku. Balikuma omuliro ku ngabo ennene n'obugabo obutono, emitego gy'obusaale, emiggo egy'omu ngalo, n'amafumu, ne bibamala okukuma omuliro okumala emyaka musanvu. Baliba tebeetaaga kutyaba nku mu ttale, wadde okutema emiti mu kibira, kubanga ebyokulwanyisa bye banaafumbisanga. Era balinyaga abo abaabanyaganga, baliggya ebintu ku abo abaabaggyangako ebyabwe.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. “Ebyo byonna bwe biribaawo, ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikangamu mu Yisirayeli, mu Kiwonvu ky'Abatambuze ku ludda lw'ennyanja olw'ebuvanjuba, era kiriziyiza abo abayitamu. Eyo gye baliziika Googi n'eggye lye lyonna, kyekiriva kiyitibwa Ekiwonvu ky'Eggye lya Googi. Ab'Eggwanga lya Yisirayeli balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okulongoosa ensi. Ddala abantu bonna mu ggwanga balyetaba mu kubaziika, era kiribaweesa ekitiibwa ku lunaku lwe ndigulumizibwa. Nze Mukama njogedde. Emyezi omusanvu nga giweddeko, walirondebwawo abasajja okuba n'omulimu ogw'olubeerera ogw'okuyitanga mu ggwanga lyonna, okunoonya n'okuziika abo abalisigala ku ngulu nga tebannaziikibwa, balyoke basobole okulongoosa ensi. N'abo abaligenda bayitaayita mu ggwanga, bwe banaalabanga eggumba ly'omuntu, banaasimbangawo akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu Kiwonvu ky'Eggye lya Googi. Era walibaawo ekibuga ekiriyitibwa Hamona. Bwe batyo bwe balirongoosa ensi eyo.” Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Era ggwe omuntu, gamba ebinyonyi byonna n'ebisolo byonna eby'omu ttale nti: ‘Mwekuŋŋaanye mujje mukuŋŋaane okuva ku njuyi zonna, mujje ku kitambiro kye mbaweerayo, ekitambiro ekinene ku nsozi z'omu Yisirayeli, mulye ennyama, munywe n'omusaayi. Mulirya emirambo gy'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abafuzi b'ensi, ogw'endiga eza sseddume n'ogw'endiga ento; ogw'embuzi n'ogw'ente ennume, zonna ezassava eziva e Basani. Mulirya amasavu ne mwekkutira, mulinywa omusaayi ne mugutamiira ku mbaga y'ekitambiro nze kye mbaweereddeyo. Muliriira mu ddiiro lyange, ne mukkuta embalaasi n'abazeebagala, n'abalwanyi ab'amaanyi, n'abasajja bonna abaserikale. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.’ ” “Amawanga ndigooleka ekitiibwa kyange, ne balaba bwe nnina obuyinza okutuukiriza bye nsazeewo okukola. Okuva ku olwo n'okweyongerayo, ab'Eggwanga lya Yisirayeli balimanya nga Nze Mukama, Katonda waabwe. N'amawanga amalala galimanya ng'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, baawaŋŋangusibwa lwa bibi byabwe, kubanga baayonoona, ne mbaabulira, ne ndeka abalabe baabwe okubawangula n'okubattira mu lutalo. Nabayisa nga bwe basaanira olw'obutaba balongoofu, n'olw'obwonoonyi bwabwe, bwe ntyo ne mbaabulira.” Kale Mukama Afugabyonna agamba nti: “Naye kaakano, olw'okulumirwa ekitiibwa ky'erinnya lyange, nja kukwatirwa ekisa bazzukulu ba Yakobo, ab'Eggwanga lya Yisirayeli mbaggyeyo gye baatwalibwa nga basibe. Bwe balitebenkera emirembe mu nsi yaabwe nga tebaliiko abatiisa, balyerabira bwe baaswazibwa olw'obutaba beesigwa gye ndi. Bwe ndimala okubaggya mu mawanga, ne mbakomyawo nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi z'abalabe baabwe, ndiraga amawanga mangi nga bwe ndi omutuukirivu, n'abantu bange balimanya nga Nze Mukama, Katonda waabwe. Ekyo balikimanya, kubanga nze nabasindika okuwaŋŋangukira mu mawanga nga basibe, era kaakano nze mbakuŋŋaanyizza ne mbakomyawo mu nsi yaabwe, ne sirekaayo n'omu ku bo okubeera eyo. Ndiyiwa Mwoyo wange ku b'Eggwanga lya Yisirayeli, ne siddamu kubaabulira. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.” Lwali lunaku olw'ekkumi, ng'omwaka kye gujje gutandike, gwe mwaka ogw'amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, era nga gwe mwaka ogw'ekkumi n'ena bukya Yerusaalemu kiwangulwa. Ku lunaku olwo lwennyini, amaanyi ga Mukama ne gankwatako ne gantwala. Mu kulabikirwa, Katonda n'antwala mu nsi ya Yisirayeli, n'anteeka ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali mu bukiikaddyo ekifaanana ng'ekibuga. N'antwalayo, ne ndaba omusajja ng'amasamasa ng'ekikomo. Yali akutte mu mukono gwe omuguwa ogw'obugoogwa, n'olumuli olupima, era ng'ayimiridde mu mulyango. Omusajja oyo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tunula weetegereze bye ŋŋenda okukulaga, era bitegere amatu, obisseeko omwoyo, kubanga oleeteddwa wano, ndyoke mbikulage. Byonna by'onoolaba, obibuuliranga ab'Eggwanga lya Yisirayeli.” Awo ne ndaba ekisenge eky'ebweru ekyetooloola Essinzizo lya Mukama. Omusajja yali akutte olumuli olupima, olwali olwa mita essatu obuwanvu. Awo n'apima ekisenge. Obugulumivu bwakyo bwali mita ssatu, n'obugazi bw'omubiri gwakyo, nabwo nga bwa mita ssatu. Awo n'ajja ku mulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya amadaala gaagwo, n'apima omulyango ogwo we guyingirirwa. Obugazi bwawo bwali mita ssatu. Okweyongerayo, waaliwo olukuubo oluwanvu olwaliko obusenge ebbali n'ebbali obubeeramu abakuumi, obusenge busatu ku buli ludda, nga buli kamu ka mita ssatu obuwanvu, ne mita ssatu obugazi. Ekisenge ekyawula obusenge obwo, kyali kya mubiri gwa mita bbiri n'ekitundu. Okuyisa obusenge obwo, waaliwo olukuubo lwa mita ssatu obuwanvu, olugenda ku kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda. N'apima olukuubo olwo, nga lwa mita ssatu. N'alyoka apima akasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, akasembayo mu lukuubo olwo nga ke kaliraanye Essinzizo. Obusenge obwo obw'abakuumi obusatu ku buli ludda olw'olukuubo, bwali bwenkanankana, era n'ebisenge wakati waabwo, byalina omubiri ogwenkanankana. Omusajja era n'apima n'awayingirirwa mu mulyango. Obugazi bwawo bwali mita ttaano, n'obuwanvu bwawo mita mukaaga n'ekitundu. Mu maaso g'obusenge bw'abakuumi obwali ku buli ludda, waaliwo ebbanga lya kimu kyakubiri ekya mita ku buli ludda. Ate bwo obusenge obwa buli ludda, bwali bwa mita ssatu ku njuyi zaabwo zonna. Awo n'apima obugazi bw'olukuubo lwonna, okuva ku kisenge eky'emabega eky'akasenge akamu, n'eky'emabega eky'akasenge akalala nga bwe butunuuliganye, obugazi obwo ne buba mita kkumi na bbiri n'ekitundu. Akasenge akasemberayo ddala nga k'ovaamu okuyingira mu luggya, yakapima nga ka mita kkumi obugazi. Obuwanvu bwonna obw'olukuubo, okuva ku mulyango awayingirirwa okutuuka ku kasenge akasembayo k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali mita amakumi abiri mu ttaano. Obusenge obwo ku buli ludda olw'olukuubo, bwalina amadirisa okwetooloola. Amadirisa ago gaali mafunda munda, awatunula emyango gyago mu bisenge ebyomunda, era ku buli mwango, kwali kwoleddwako ebifaananyi by'enkindu. Omusajja n'antwala mu luggya olw'ebweru. Lwali lwetooloddwa omwaliiro ogw'amayinja, n'obusenge amakumi asatu, obutunudde ku mwaliiro ogwo, ogwali gwetoolodde oluggya. Oluggya luno olw'ebweru, lwali wansinsiko okusinga oluggya olwomunda. N'apima obugazi okuva ku mulyango ogwawansi, okutuuka ku luggya olwomunda, bwe buvanjuba n'obukiikaddyo, mita amakumi ataano. N'apima obuwanvu n'obugazi bw'omulyango ogw'oluggya olw'ebweru ogw'omu bukiikakkono. Obusenge obusatu ku buli ludda olw'olukuubo, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byonna awamu byalina ebipimo ebyenkanankana n'eby'omu lukuubo olw'omulyango ogw'omu buvanjuba. Obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu. Amadirisa g'olukuubo lwagwo, n'obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, n'enkindu ezooleddwako, byali kyekimu n'eby'omulyango ogw'omu buvanjuba. Baalinnyanga amadaala musanvu okugutuukako, n'obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali ku nkomerero yaagwo awatunudde mu luggya. Omulyango guno ogw'omu bukiikakkono, okufaananako n'ogwo ogw'omu buvanjuba, gwali gutunudde mu mulyango omulala oguyingira mu luggya. Omusajja n'apima ebbanga eriri wakati w'emiryango egyo, ne liba mita amakumi ataano. Awo omusajja n'antwala mu bukiikaddyo, nayo ne tusangayo omulyango. N'agupima, nga gwenkanankana na giri ebiri. Mwalimu amadirisa mu busenge bw'olukuubo lwagwo, nga bwe gaali mu nkuubo ziri endala. Obuwanvu bw'olukuubo, bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu. Waaliwo amadaala musanvu okugutuukako. Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali ku nkomerero yaagwo awatunuulidde oluggya. Waaliwo enkindu ezooleddwa ku bisenge by'olukuubo ebyomunda. Era oluggya olwomunda, lwalina omulyango ogutunudde mu bukiikaddyo. Omusajja n'apima okuva ku mulyango ogw'ebweru okutuuka ku mulyango ogwo ogwomunda, ku ludda olwo olw'omu bukiikaddyo, mita amakumi ataano. Awo omusajja n'antwala mu luggya olwomunda, ng'ampisa mu mulyango ogw'omu bukiikaddyo. N'apima omulyango ogwo ne guba nga gwenkanankana n'emiryango egy'omu kisenge eky'ebweru. Obusenge bw'abakuumi, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byali byenkanankana n'eby'emiryango emirala era obusenge bwonna bwaliko amadirisa wonna okwetooloola. Obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu. Obusenge bw'omulyango ogwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali bwolekedde oluggya olw'ebweru, n'enkindu zaali zooleddwa ku bisenge ebyomunda eby'olukuubo lwagwo. Waaliwo amadaala munaana okugutuukako. Omusajja n'antwala mu luggya olwomunda, ng'ampisa mu mulyango ogw'omu buvanjuba. N'apima omulyango ogwo, ne guba nga kyekimu n'emirala. Obusenge bwagwo obw'abakuumi, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byali ng'eby'emiryango emirala. Era gwaliko amadirisa enjuyi zonna, era ne ku busenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya. Obuwanvu bwonna bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu. Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali butunudde mu luggya olw'ebweru. Enkindu zaali zooleddwa ku bisenge by'olukuubo lwagwo ebyomunda, era waaliwo amadaala munaana okugutuukako. Omusajja n'antwala ku mulyango ogw'omu bukiikakkono. N'agupima, ne guba nga gwenkanankana n'emirala. Nagwo gwalina obusenge obw'abakuumi, obusenge bw'ovaako okuyingira mu luggya, ebisenge ebyoleddwako enkindu, n'amadirisa ku njuyi zonna, n'obuwanvu bwagwo bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu. Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali bwolekedde oluggya olw'ebweru. Enkindu zaali zooleddwa ku bisenge by'olukuubo lwagwo ebyomunda, era waaliwo amadaala munaana okugutuukako. Waaliwo ennyumba enkookere ku mulyango ogwomunda ogw'omu bukiikakkono, ng'oluggi lwayo luggulira mu busenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya. Mu nnyumba eyo, mwe baanaalizanga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba. Mu busenge obwo, bw'ovaamu okuyingira mu luggya, mwalimu emmeeza bbiri ku ludda olumu, n'endala bbiri ku ludda olulala, ez'okuttirangako ensolo ez'ekitambiro ekyokebwa nga kiramba, n'ekitambiro ekiweebwayo olw'ebibi, n'ekitambiro ekiweebwayo ng'omutango olw'omusango. Ate ebweru awambukirwa ku mulyango ogw'omu bukiikakkono, waaliwo emmeeza bbiri ku ludda olumu n'endala bbiri ku ludda olulala. Zonna awamu zaali emmeeza munaana, kwe battiranga ensolo ez'ebitambiro: emmeeza nnya ku ludda olumu, n'emmeeza nnya ku ludda olulala, okuliraana omulyango. Waaliwo n'emmeeza endala nnya, ez'okuteekangako ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ez'amayinja amateme, nga za sentimita nsanvu mu ttaano obuwanvu n'obugazi, ne sentimita amakumi ataano obugulumivu. Ku mmeeza ezo, kwe baateekanga ebikozesebwa byonna mu kutta ensolo ez'ebitambiro. Amalobo ag'obuwanvu obwenkana oluta olumu, gaali gasibiddwa munda okwetooloola ebisenge, mu busenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya. Ku mmeeza nga kwe kuteekebwa ennyama ey'ekiweebwayo. N'anzigya ebweru n'annyingiza mu luggya olwomunda. Mu luggya olwo olwomunda, waaliwo ennyumba z'abayimbi, ku mabbali g'omulyango ogw'omu bukiikakkono, nga zitunuulidde ebukiikaddyo. Era waaliwo ennyumba emu ku mabbali g'omulyango ogw'omu buvanjuba, ng'etunuulidde ebukiikakkono. Omusajja n'aŋŋamba nti: “Ennyumba eno etunuulidde obukiikaddyo, ya bakabona abakola emirimu egy'omu Ssinzizo. N'ennyumba etunuulidde obukiikakkono, ya bakabona abakola emirimu ku alutaari. Abo be basibuka mu Zaddooki, bokka ku b'omu Kika kya Leevi abakkirizibwa okusemberera Mukama okumuweereza.” Awo omusajja n'apima oluggya olwomunda ne luba nga lwenkana obuwanvu n'obugazi, mita amakumi ataano. Alutaari yali mu maaso g'Essinzizo. Awo n'antwala mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu Ssinzizo. N'apima omwango gw'omulyango gw'akasenge ako, ne guba mita bbiri n'ekitundu obuwanvu oludda olumu, ne mita bbiri n'ekitundu oludda olulala, n'obugazi mita emu n'ekitundu oludda olumu ne mita emu n'ekitundu oludda olulala. Obuwanvu bw'akasenge ako k'ovaamu okuyingira mu Ssinzizo, bwali mita kkumi, n'obugazi bwako, mita ttaano n'ekitundu. Waaliwo amadaala agalinnyibwako okutuuka ku mulyango ogwo, n'empagi bbiri okuliraana emyango, empagi emu ku buli ludda. Awo omusajja n'antwala mu Ssinzizo, n'apima emyango gy'omulyango, ne giba mita ssatu ku ludda olumu, ne mita ssatu ku ludda olulala. Obwo bwe bwali obugazi bw'emyango. Omulyango gwennyini, gwali mita ttaano obugazi. Ekibajjo ekimu eky'oluggi, kyali mita bbiri n'ekitundu, n'ekirala mita bbiri n'ekitundu. N'apima Essinzizo lyennyini, ne liba mita amakumi abiri obuwanvu, ne mita kkumi obugazi. Awo n'ayingira mu kisenge ekyomunda ddala, n'apima emyango gy'omulyango, ne giba mita emu obugazi, n'obugazi bw'omulyango ne buba mita ssatu, n'ebisenge eby'ebbali n'ebbali mita ssatu n'ekitundu. N'apima ekisenge ekyo kyennyini ekyomunda ddala. Kyali mita kkumi ku kkumi obuwanvu n'obugazi. Ekisenge kino kye kyali kisemberayo ddala munda mu Ssinzizo. Awo n'aŋŋamba nti: “Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.” Awo omusajja n'apima obunene bw'omubiri gw'ekisenge ky'ekizimbe ky'Essinzizo. Kyali kya mita ssatu. Ku mbiriizi z'ekisenge ekyo okwetooloola Essinzizo lyonna, baali bazimbiddeko obusenge, nga buli kamu ka mita bbiri obugazi. Obusenge obwo obw'oku mbiriizi z'Essinzizo, bwali bwa kalina ssatu, nga buli mwaliiro gwa kalina, guliko obusenge amakumi asatu. Bwayingira mu kisenge eky'ennyumba ey'obusenge obwo obw'omu mbiriizi enjuyi zonna, bukwate omwo, naye buleme kukwata mu kisenge eky'Essinzizo. Okwetooloola Essinzizo lyonna, akasenge k'omu mbiriizi zaalyo ak'omu kalina emu, kaabanga kagazi okusinga kannewaako ak'omu kalina eddirira wansi, kubanga okwetooloola Essinzizo, ekisenge kyalyo kyagendanga kifunda okudda waggulu. Obugazi bw'obusenge kyebwavanga bweyongera, ng'odda waggulu. Bwe batyo baalinnyanga okuva mu kalina eya wansi okutuuka mu ya waggulu, nga bayita mu kalina eya wakati. Era ne ndaba ng'Essinzizo lyali ku kigulumu enjuyi zonna. Emisingi gy'ennyumba eya kalina ey'omu mbiriizi, gyali olumuli lulamba olwa mita ssatu obuwanvu. Obugazi bw'ekisenge eky'ebweru w'ennyumba eya kalina ey'omu mbiriizi z'Essinzizo bwali mita bbiri n'ekitundu, era wakati w'ennyumba ey'obusenge obw'omu mbiriizi z'Essinzizo, n'amayumba ag'omu luggya, waaliwo olukuubo lwa mita kkumi obugazi okwetooloola Essinzizo enjuyi zonna. Ennyumba ey'obusenge obw'omu mbiriizi z'Essinzizo, yaggulirwanga mu lukuubo olwo, oluggi olumu nga lutunudde mu bukiikakkono, n'oluggi olulala mu bukiikaddyo, n'olukuubo olwo olwasigalawo lwali lwa mita bbiri n'ekitundu enjuyi zonna. Ekizimbe ekyali kitunudde mu lukuubo olwo ku ludda olw'ebugwanjuba, kyali kya mita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne mita asatu mu ttaano obugazi, n'ebisenge byakyo nga birina omubiri gwa mita bbiri n'ekitundu obunene enjuyi zonna. Awo omusajja n'apima ekizimbe kyonna eky'Essinzizo. Kyali mita amakumi ataano obuwanvu. N'apima n'okuva emabega w'ekizimbe ky'Essinzizo, okutuukira ddala ekizimbe eky'omu bugwanjuba we kikoma. Obuwanvu bwawo nabwo bwali mita amakumi ataano. Obukiika obw'omu maaso g'Essinzizo ku ludda olw'ebuvanjuba, wamu n'enkuubo ku njuyi zombi, ez'Essinzizo, nabwo bwali mita amakumi ataano. N'apima n'obuwanvu bw'ekizimbe ekitunudde mu lukuubo olw'emmanju w'Essinzizo wamu n'ebisenge byakyo erudda n'erudda. Nabwo bwali mita amakumi ataano. Akasenge k'ovaamu okuyingira mu Ssinzizo, n'ekisenge ekinene kyennyini eky'Essinzizo, era n'Ekifo Ekitukuvu Ennyo byali bibikkiddwako embaawo ku bisenge, okuva wansi okutuuka ku madirisa. Amadirisa ago gaali gabikkiddwako. Ebisenge byonna eby'enjuyi zonna, ebyomunda n'ebweru w'Essinzizo, okutuuka ku bbanga eryali waggulu w'enzigi, byali byoleddwako ebifaananyi by'enkindu n'eby'abakerubi, buli lukindu nga luli wakati w'omukerubi n'omukerubi, ate nga buli kerubi alina obwenyi bubiri: obwenyi obw'omuntu obutunuulidde olukindu ku ludda olumu, n'obwenyi obw'empologoma obutunuulidde olukindu ku ludda olulala. Bwe bityo bwe byakolebwa okubuna ebisenge by'Essinzizo byonna ku njuyi zonna, okuva wansi okutuuka waggulu w'enzigi. Ebifaananyi bya bakerubi n'eby'enkindu, byayolebwa ku bisenge. Emyango gy'emiryango gy'ekisenge ekinene kyennyini eky'Essinzizo, gyali gyenkanankana enjuyi zonna. Mu maaso g'ekisenge ekyo waaliwo ekintu ekifaanana nga alutaari ey'embaawo. Kyali kya mita emu n'ekitundu obugulumivu, ne mita emu obugazi. Ensonda zaakyo, n'empagi zaakyo n'ebisenge byakyo byali bya mbaawo. Omusajja n'aŋŋamba nti: “Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Mukama.” Waaliwo oluggi oluyingira mu kisenge ekinene kyennyini eky'Essinzizo, n'oluggi oluyingira mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Enzigi ezo zaali za biwayi bibiri buli lumu, ebyewuubanga nga zeggula. Era ku nzigi ezo ez'Essinzizo, kwayolebwako ebifaananyi bya bakerubi n'eby'enkindu, ng'ebyayolebwa ku bisenge. Era ebweru ku bwenyi bw'akasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya, kwabikkibwako embaawo ez'omubiri omunene. Ebisenge by'akasenge ako eby'erudda n'erudda, byalina amadirisa agataggulwa, agaliko ebifaananyi by'enkindu. Obusenge obwazimbibwa mu mbiriizi z'Essinzizo, bwe bwali bwe butyo n'embaawo ez'omubiri omunene. Awo omusajja n'antwala mu luggya olw'ebweru okwolekera obukiikakkono, n'annyingiza mu nnyumba eyali eyolekera olukuubo, era ng'etunudde mu kizimbe ekirala ku ludda olw'ebukiikakkono bw'Essinzizo. Ennyumba eyo yali ya mita amakumi ataano obuwanvu ku ludda olw'omu bukiikakkono, ne mita amakumi abiri mu ttaano obugazi. Ku ludda olumu, yali etunudde mu luggya lw'Essinzizo olwomunda, olwa mita ekkumi obugazi. Ku ludda olulala, yali eyolekedde amayinja amaaliire ag'oluggya lw'Essinzizo olw'ebweru. Yali ezimbiddwa ku myaliiro esatu egya kalina, ng'ogwa wansi gwe gusinga obugazi gunnewaagwo ogwa waggulu. Mu nnyumba, mwalimu olukuubo lwa mita ttaano obugazi, ne mita amakumi ataano obuwanvu, nga n'emiryango gyolekedde obukiikakkono. Obusenge obw'omu kalina eya waggulu, bwali bufunda okusinga obwa wansi waabwo, kubanga okuva wansi okudda waggulu, ebbalaza zaagendanga zeeyongera okugaziwa, n'okusala ku bugazi bw'obusenge ku buli kalina. Obusenge obw'omu kalina zino, tebwalina mpagi zibuwanirira ng'ebisenge eby'omu bizimbe ebirala eby'omu luggya, akasenge aka waggulu kyekaavanga kafunzibwa okusinga kannewaako kwe kaazimbirwa ak'omu kalina eya wansi. Mu maaso g'obusenge obwo, waaliyo ekisenge kya mita amakumi ataano obuwanvu, nga kibuliraanye okwolekera oluggya olw'ebweru. Obuwanvu bw'ennyumba ezaaliko obusenge mu luggya olw'ebweru, bwali mita abiri mu ttaano, ate obw'ezo ezaali mu maaso g'Essinzizo bwali mita amakumi ataano. Era wansi w'ennyumba ezo, we waali awayingirirwa ku ludda olw'ebuvanjuba, ng'oziyingira okuva mu luggya olw'ebweru. Ku ludda olw'ebuvanjuba, mu maaso g'oluggya n'ekisenge ky'ebweru eky'ekizimbe kyalwo, nawo waaliwo olubu lw'obusenge. Mu maaso gaabwo waaliwo, olukuubo ng'olwali mu maaso g'obusenge obutunudde ebukiikakkono. Obuwanvu n'obugazi bwalwo, emiryango n'enzigi awafulumirwa, byali bye bimu ddala nga bwe byali ebukiikaddyo. Era olukuubo we lutandikira mu maaso g'ekisenge eky'ebweru ng'ova ebuvanjuba, waaliwo oluggi. Awo omusajja n'aŋŋamba nti: “Amayumba ago gombi mu bukiikakkono, ne mu bukiikaddyo agatunudde mu luggya, mayumba matukuvu. Bakabona abatuuka awali Mukama, mu go mwe banaaliiranga ku bitukuvu ennyo ebimuwongerwa. Amayumba ago, kifo kitukuvu, era mwe banaaterekanga ebitukuvu ennyo, awamu n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo olw'ebibi, n'ebiweebwayo ng'omutango olw'omusango. Bakabona bwe banaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, bwe banaabanga bakivaamu okuyingira mu luggya olw'ebweru, ebyambalo ebitukuvu bye babadde baweererezaamu, banaabirekanga mu busenge obwo, ne bambala engoye endala, ne balyoka basemberera ekifo abantu abalala mwe bakukuŋŋaanira.” Bwe yamala okupima munda w'Essinzizo, n'anfulumya ng'ayita mu mulyango ogw'ebuvanjuba, n'alyoka alipima ebweru enjuyi zonna. N'apima oludda olw'ebuvanjuba ng'akozesa olumuli olupima, ne ziwera mita ebikumi bibiri mu ataano. N'apima enjuyi zonna. N'apima oludda olw'ebukiikakkono mita ebikumi bibiri mu ataano, n'oludda olw'ebukiikaddyo, mita ebikumi bibiri mu ataano. N'akyukira oludda olw'ebugwanjuba, n'apima mita ebikumi bibiri mu ataano. Yapima Essinzizo enjuyi zonna ennya. Lyalina ekisenge ekiribugiriza enjuyi zonna, obuwanvu mita ebikumi bibiri mu ataano, n'obugazi mita ebikumi bibiri mu ataano, okwawula ebitukuvu n'ebitali bitukuvu. Awo oluvannyuma omusajja n'antwala ku mulyango ogwo ogutunudde ebuvanjuba. Ne ndaba ekitangaala ky'ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli, ne nkiraba nga kijja nga kiva ebuvanjuba. Eddoboozi lya Katonda lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye. Okulabikirwa kuno, kwali ng'okwo kwe nafuna, Katonda lwe yajja okuzikiriza Ekibuga Yerusaalemu, era nga kwe nafuna bwe nali ku lubalama lw'Omugga Kebari. Awo ne ngwa wansi, nga nneevuunise ku ttaka. Ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu Ssinzizo, nga kiyita mu Mulyango gw'Ebuvanjuba. Ne wabaawo omwoyo ogwansitula, ne gundeeta mu luggya olwomunda, ne ndaba ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama. Kyali kijjuzizza Essinzizo. Awo ne mpulira ayogera nange, ng'asinziira mu Ssinzizo. Mu kiseera ekyo, oli yali ayimiridde ku mabbali gange. Awo eyayogera n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kino kye kifo ky'entebe yange ey'obwakabaka, era kye kifo we sigenda kuseguka. Wano we nnaabeeranga mu Bayisirayeli emirembe gyonna. N'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, wamu ne bakabaka baabwe, tebaliddamu kuvumaganya linnya lyange ettukuvu, nga banvaako okusinza ebyo ebitali Nze Katonda, oba nga bakolera emirambo gya bakabaka baabwe ebijjukizo ebigulumivu. Baazimba embiri zaabwe, nga bateeka omulyango gwabwe n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange n'ag'omufubeeto gwange, nga kisenge busenge kye kyawula nze nabo, ne bavumaganya erinnya lyange ettukuvu olw'ebyenyinyalwa bye baakola, kyennava nsunguwala ne mbazikiriza. Kale kaakano balekere awo obutaba beesigwa, bakomye okusinza ebirala ebitali Nze Katonda, era baggyewo ebijjukizo by'emirambo gya bakabaka baabwe. Olwo nnaabeeranga mu bo emirembe gyonna.” Era n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, laga ab'Eggwanga lya Yisirayeli Essinzizo balabe, endabika n'entereeza yaalyo, balyoke bakwatibwe ensonyi olw'ebikolwa byabwe ebibi. Bwe banaakwatibwa ensonyi olwa byonna bye bakoze, obannyonnyole enkola y'Essinzizo n'enfaanana yaalyo, awayingirirwa n'awafulumirwa, n'ekifaananyi kyalyo kyonna, n'amateeka gonna n'ebiragiro byonna ebiriteekeddwako. Obibawandiikire byonna babirabe, balyoke bamanye Essinzizo lyonna nga bwe litegekeddwa, n'ebiragiro byalyo byonna, era babituukirizenga. Lino lye tteeka ly'Essinzizo: ekifo kyonna ekiryetoolodde ku ntikko y'olusozi, kiriba kifo kitukuvu nnyo. Eryo lye tteeka ly'Essinzizo.” Bino bye bipimo by'alutaari, ng'ekipimo kyekimu ekikozesebwa okupima Essinzizo. Okwetooloola entobo yaayo yonna, wa kubaawo olusalosalo lwa sentimita amakumi ataano okukka wansi, ne sentimita amakumi ataano obugazi, nga waggulu luliko omugo gwa sentimita abiri mu ttaano obugulumivu okwetooloola. Ekitundu ekyawansi, okuva ku ntobo okutuuka ku mugo ogwa wansi, walibaawo mita emu obugulumivu ne sentimita amakumi ataano obugazi, n'okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, walibaawo mita bbiri obugulumivu, ne sentimita amakumi ataano obugazi. Ekitundu kino eky'alutaari ekyawaggulu, kiriba kya mita bbiri obuwanvu. Okuva awo, alutaari eriba n'amayembe ana agambuka waggulu. Ekitundu ky'alutaari ekisembayo waggulu, kiriba kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, mita mukaaga mukaaga obuwanvu n'obugazi. Ekitundu ky'alutaari eky'omu masekkati, nakyo kiriba kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, mita musanvu ku buli ludda, nga kirina omugo ogw'ebweru gwa sentimita amakumi abiri mu ttaano obugulumivu, nga lwo olusalosalo wansi ku ntobo, lwa sentimita amakumi ataano obugazi. Amadaala agambuka ku alutaari eyo, galiba ku ludda lwayo olw'ebuvanjuba. Omusajja n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, Mukama Afugabyonna, agamba nti: ‘Bino bye biragiro ebirigobererwa, bwe balikola alutaari okuweerangayo ku yo ebiweebwayo ebyokebwa, n'okumansirangako omusaayi. Bakabona Abaleevi ab'omu zzadde lya Zaddooki abatuuka we ndi okumpeereza Nze Mukama Afugabyonna, olibawa ente envubuka, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Olitoola ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku mayembe ga alutaari eyo ana, ne ku nsonda ennya ez'omugo gwayo, ne ku mugo ogugyetooloola. Bw'otyo bw'oligirongoosa, n'ogitukuza. Era olitwala ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ebibi, n'ogyokera mu kifo eky'omu kibangirizi ekyalagibwa eky'Essinzizo, ebweru w'Essinzizo. Ku lunaku oluddirira, oliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo, n'eba ekiweebwayo olw'ebibi, ne bakozesa omusaayi gwayo okutukuza alutaari, nga bwe baakozesa ogw'ente. Bw'olimala okutukuza alutaari, n'olyoka owaayo ente envubuka eteriiko kamogo, n'endiga ennume era eteriiko kamogo, eggyiddwa mu ggana, n'ozireeta mu maaso gange, Nze Mukama, bakabona ne bazimansaako omunnyo ne bazookya, zibe ekiweebwayo gye ndi Nze Mukama, ekyokebwa. Okumala ennaku musanvu, onootegekanga buli lunaku embuzi ey'ekiweebwayo olw'ebibi, era banaategekanga ente envubuka, n'endiga ennume ezitaliiko kamogo, ze baggye mu ggana. Balimala ennaku musanvu nga bagogola alutaari, bagitukuze, bagiwonge. Ennaku omusanvu bwe ziriggwaako, okuva ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona banaaweerangayo ku alutaari eyo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Olwo ndikkiriza okubaaniriza mwenna. Nze, Mukama Afugabyonna, njogedde.’ ” Awo omusajja n'anzizaayo mu kkubo eriyita mu mulyango gw'Essinzizo ogw'ebweru, ogutunudde ebuvanjuba. Gwali muggale. Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Omulyango guno gunaabanga muggale.Teguliggulwawo, era tewaliba muntu n'omu aliguyitamu okuyingira, kubanga Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nguyiseemu okuyingira, kyegunaavanga gusigala nga muggale. Omulangira ali mu buyinza, ye yekka, kubanga ye kabaka, anaatuulanga mu lukuubo lwagwo, okuliiramu ekijjulo mu maaso gange Nze Mukama. Wabula anaayingiranga ng'ayita mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olw'ebweru, era mu kkubo eryo, mw'anaayitanga okufuluma.” Awo omusajja n'ampisa mu mulyango ogw'omu bukiikakkono, n'antwala mu maaso g'Essinzizo. Bwe natunula, ne ndaba ng'Essinzizo lijjudde ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama. Ne nneeyala ku ttaka nga nneevuunise. Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, weetegereze nnyo, otunule olabe, otege amatu owulire ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna, ne ku mateeka gonna ag'Essinzizo. Weetegereze nnyo omanye abakkirizibwa okuyingira mu Ssinzizo, n'abo abateekwa okugaanibwa okuyingira mu Kifo Ekitukuvu. “Tegeeza abajeemu abo ab'Eggwanga lya Yisirayeli, nti Nze Mukama Afugabyonna mbagamba nti: ‘Mulekere awo ebyenyinyalwa byonna bye mubadde mukola. Mujaajaamizza Essinzizo lyange nga muyingizaamu abagwira abatali bakomole. Abantu abatakwata mateeka gange bayingira mu Ssinzizo, ng'amasavu n'omusaayi eby'ebitambiro biweebwayo gye ndi. Bwe batyo abantu bange ne bamenya endagaano yange, olw'ebyenyinyalwa byonna bye mukola. Mmwe mwennyini temukuumye bintu byange ebitukuvu mu Kifo kyange Ekitukuvu, naye mubitaddeko bagwira abo, be baba babibakuumira. “ ‘Nze Mukama Afugabyonna, ŋŋamba nti tewaliba mugwira atali mukomole era atakwata mateeka gange, aliyingira mu Kifo kyange Ekitukuvu, wadde omugwira oyo abeera mu bantu bange Abayisirayeli.’ “Naye Abaleevi, abanneesambira ddala, Bayisirayeli bannaabwe bwe baawaba ne banvaako ne basinza ebifaananyi bya balubaale, balibonerezebwa olw'ekibi kyabwe. Kyokka banaaweerezanga mu Kifo kyange Ekitukuvu nga balabirira emiryango gy'Essinzizo, era be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa era n'ebitambiro, era banaabeerangawo okuweereza abantu. Naye olw'okuba nga baakulembera abantu mu kusinza ebifaananyi bya balubaale, ne baleetera ab'Eggwanga lya Yisirayeli okwonoona, Nze Mukama Afugabyonna kyenvudde mmalirira okubabonereza olw'ekibi kyabwe. Tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona we ndi, wadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba okuyingira mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Baliswazibwa olw'ebyenyinyalwa bye baakola. Newaakubadde ebyo biri bwe bityo, naye ndibafuula abakuumi b'Ekifo kyonna Ekitukuvu, abanaakolanga emirimu gyamu gyonna.” “Naye bo bakabona, abo Abaleevi abasibuka mu Zaddooki abaasigala nga balabirira Ekifo kyange Ekitukuvu, Abayisirayeli abalala bonna bwe beewaggula ne banvaako, abo be banansembereranga okumpeereza, era be banajjanga mu maaso gange okuwaayo gye ndi amasavu n'omusaayi eby'ebitambiro. Abo banaayingiranga mu Kifo kyange Ekitukuvu, era banaasembereranga emmeeza yange ne bampeereza, era banaakuumanga bye ndibalagira. Bwe banaayingiranga mu miryango gy'oluggya lw'Essinzizo olwomunda, banaayambalanga ebyambalo ebyeru. Naye tebaayambalenga byambalo byakolebwa mu byoya bya ndiga, bwe banaabanga baweereza mu luggya olwomunda, oba munda mu Ssinzizo. Banaasibanga ebiremba ebyeru ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga empale enjeru. Tebaayambalenga kintu na kimu ekituuyanya. Bwe banaabanga bafuluma okugenda mu luggya olw'ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebitukuvu, ne bambala engoye endala, ebyambalo byabwe ebitukuvu biremenga kukola kabi ku bantu. “Bakabona tebaamwengako nviiri zaabwe kuzimalako, wadde okuzireka okuduumuuka ku mitwe gyabwe, naye banaazisalanga ne balekako ensaamusaamu. Tewaabenga kabona anywa mwenge nga bagenda okuyingira mu luggya olwomunda. Kabona taawasenga nnamwandu, wadde mukazi eyanoba oba eyagobebwa bba, wabula awasenga muwala Muyisirayeli embeerera, oba nnamwandu w'eyali kabona. “Bakabona banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w'ekitukuvu n'ekitali kitukuvu, n'okwawula ekirongoofu n'ekitali kirongoofu. N'awali enkaayana, bakabona be banaasalanga ensonga, nga bagoberera amateeka gange. Banaakuumanga ennaku zange enkulu, ne Sabbaato zange, nga bagoberera amateeka gange n'ebiragiro byange. “Kabona taasembererenga mufu n'omu kwefuula atali mulongoofu, okuggyako ng'omufu oyo kitaawe, oba nnyina, oba mutabani we, oba muwala we, oba mwannyina ataafumbirwa. Kabona bw'anaamalanga okuggyibwako obutali bulongoofu, anaalindangako ennaku musanvu, n'alyoka ayingira mu luggya lw'Ekifo Ekitukuvu olwomunda. Olwo anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ebibi, n'alyoka addamu okuweerezanga mu Ssinzizo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. “Obwakabona, bwe mpadde bakabona, okuba eky'ensikirano. Nze busika bwabwe. Temubawanga butaka mu Yisirayeli, nze butaka bwabwe. Banaalyanga ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo olw'ebibi, n'ekiweebwayo okuba omutango olw'omusango, era buli kintu ekiwongebwa mu Yisirayeli kinaabanga kyabwe. Ebisinga obulungi ku byonna bye musooka okukungula, ne ku byonna bye muwaayo gye ndi, binaabanga bya bakabona. Era munaawanga bakabona omugaati ogusooka okufumbibwa ku buwunga bw'eŋŋaano bwe mugoye, ne ndyoka mpa amaka gammwe omukisa. Bakabona tebaalyenga nsolo oba nnyonyi efudde yokka, oba etaaguddwa ekisolo oba ekinyonyi.” Bwe muliba mugabana ensi nga muyita mu kukuba obululu, muwangayo ekitundu, ne mukiwongera Mukama, ne kiba kikye kitukuvu. Kiriba kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita ttaano obugazi. Ekitundu ekyo kyonna, kiriba kitukuvu yonna gye kikoma. Ku kyo, muliggyako ekibangirizi eky'okuzimbamu Ekifo Ekitukuvu, kya mita ebikumi bibiri mu ataano okwenkanankana mu njuyi zonna, obuwanvu n'obugazi, n'oluggya lwakyo, lwa mita amakumi abiri mu ttaano ku njuyi zonna. Kale ekyo kye kitundu ky'olipima nga kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita ttano obugazi. Mu kyo, mwe mulibeera Essinzizo, Ekifo Ekitukuvu ennyo. Kiriba kitundu kitukuvu, nga kya bakabona abaweereza Mukama mu Kifo Ekitukuvu. Kiribaamu ennyumba zaabwe, era n'ekifo ekitukuvu eky'Essinzizo. Ekitundu ekirala ekisigalawo, ekya kilomita ekkumi n'ebbiri n'ekitundu, kiriba kya Baleevi abaweereza mu Ssinzizo, kibe kyabwe okuzimbamu ennyumba zaabwe amakumi abiri. Okuliraana n'ekifo ekyo ekitukuvu, muliteekawo ekitundu ekirala kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita bbiri n'ekitundu obugazi, zibe za kibuga eky'Eggwanga lyonna erya Yisirayeli. Ne Kabaka aliweebwa ettaka eriri mu mbiriizi z'ettaka ery'ekitundu ekitukuvu n'ez'ettaka ery'ekibuga, ku njuyi zombi ebugwanjuba n'ebuvanjuba, ng'obuwanvu bwalyo bwenkanankana n'obuwanvu bw'ogumu ku migabo gy'Ebika, era nga liva ku nsalo y'ebugwanjuba ey'ensi Yisirayeli. Ogwo gwe guliba omugabo gw'ettaka ogwa Kabaka mu nsi ya Yisirayeli, bakabaka balemenga kwongera kunyigiriza bantu bange, naye baleke ab'Eggwanga lya Yisirayeli okugabana ensi eyo mu bika byabwe. Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Mmwe abafuzi mu Yisirayeli, mulekere awo obukambwe n'obunyazi, mukole eby'amazima n'obwenkanya. Mukomye okugobanga abantu bange mu bibanja byabwe. Nze Mukama Afugabyonna nze mbagamba. “Mukozesenga minzaani n'ebipimo byonna ebirala nga bituufu. “Efa epima ebintu ebikalu, ebe nga yenkana ne baati epima eby'amazzi, nga homeri kye kipimo ekikulu ekyawamu. Efa ne baati, buli emu ebengamu kimu kya kkumi ekya homeri, “Sekeli yenkanenga ggeera amakumi abiri, ate sekeli enkaaga zenkanenga mina yammwe emu. “Kino kye munaagobereranga nga muwaayo ebitone: munaawangayo kimu eky'omukaaga ekya efa ku buli homeri ey'eŋŋaano, ne ku buli homeri eya bbaale. Ku muzigo ogw'emizayiti, munaawangayo kimu eky'ekkumi ekya baati ku buli koori. Koori kyekimu ne homeri, nayo ebaamu baati kkumi. Endiga ento emu, ye eneggyibwanga mu bikumi ebibiri, ku malundiro amagimu aga Yisirayeli. Munaawangayo ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, era n'ekiweebwayo olw'emirembe, ne mwesabira ekisonyiwo eky'ebibi byammwe. Nze Mukama Afugabyonna, Nze nkiragidde. “Abantu bonna ab'omu nsi ya Yisirayeli, banaaleetanga ekiweebwayo ekyo eri kabaka wa Yisirayeli. Era kabaka oyo ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi, ne ku Sabbaato, ne ku nnaku enkulu endala, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa, ez'Eggwanga lya Yisirayeli. Ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana, okusabira ab'Eggwanga lya Yisirayeli ekisonyiwo ky'ebibi byabwe.” Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'olubereberye, munaatambiranga ente envubuka eteriiko kamogo, ne mutukuza Essinzizo. Kabona anaatoolanga ku musaayi ogwo ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku myango gy'enzigi z'Essinzizo, ne ku nsonda ennya ez'omugo gwa alutaari, ne ku myango gy'omulyango ogw'oluggya olwomunda. Ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, onookolanga bw'otyo olwa buli omu akoze ekibi nga tagenderedde, oba nga kivudde mu butamanya. Bwe mutyo bwe munaakuumanga Essinzizo nga ttukuvu. “Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye, munaatandikanga Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, embaga ey'ennaku omusanvu. Mu nnaku ezo omusanvu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'embaga eyo olusooka, kabaka anaategekanga ku lulwe ne ku lw'abantu bonna, ente ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Ne mu nnaku omusanvu ez'embaga, buli lunaku anaawangayo eri Mukama ente musanvu, n'endiga ennume musanvu ezitaliiko kamogo, ne zookebwa nga nnamba. Era buli lunaku anaawangayo embuzi ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Alitegekerako n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, efa emu ku buli nte ne ku buli ndiga ennume, ne yini emu ey'omuzigo gw'emizayiti ku buli efa. “Ku mbaga ey'Ensiisira, etandika ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, kabaka era anaakolanga bw'atyo, anaawangayo buli lunaku mu nnaku omusanvu, ekiweebwayo olw'ekibi, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'eby'omuzigo ogw'emizayiti.” Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Omulyango ogw'oluggya olwomunda, ogutunuulira ebuvanjuba, gunaabanga muggale mu nnaku omukaaga ezikolerwamu emirimu, naye gunaggulwangawo ku lunaku lwa Sabbaato, ne ku lunaku lw'Embaga y'okuboneka kw'omwezi. Kabaka anaayingiranga ng'ayita mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olw'ebweru, n'ayimirira okumpi n'omwango gw'omulyango, bakabona ne bakola ku kiweebwayo kye ekyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo by'awaayo olw'okutabagana. Anaasinzizanga awo ku mulyango n'alyoka afuluma. Naye omulyango gunaasigalanga muggule okutuusa akawungeezi. Buli Sabbaato na buli kuboneka kwa mwezi, abantu bonna basinzizenga mu maaso ga Mukama, awo ku luggi lw'omulyango. “Ku Sabbaato, ekiweebwayo nga kiramba kabaka ky'anaawangayo gye ndi Nze Mukama, kinaabanga endiga ento mukaaga, n'endiga ennume emu, zonna nga teziriiko kamogo. Ku buli ndiga ennume, anaaleeterangako efa emu ey'eŋŋaano, ne ku buli ndiga nto, anaaleeterangako ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ky'anaayagalanga okuwa. Buli efa ey'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, anaaleeterangako yini ey'omuzigo ogw'emizayiti. Ku mbaga ey'okuboneka kw'omwezi, kabaka anaawangayo ente ennume envubuka eteriiko kamogo, n'endiga ento mukaaga, n'endiga ennume emu, zonna nga teziriiko kamogo. Ku buli nte ne ku buli ndiga ennume, anaaleeterangako efa emu ey'eŋŋaano. Ku buli ndiga ento, anaaleeterangako ky'anayagalanga. Anaaawangayo yini y'omuzigo gw'emizayiti ku buli efa y'eŋŋaano gy'awaayo. Kabaka anaayingiranga ng'ayita mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya, era omwo mw'anaayitanga ng'afuluma. “Naye abantu bwe banajjanga okunsinza Nze Mukama ku mbaga ezaalagirwa, abo abayingirira mu mulyango ogw'omu bukiikakkono, bwe banaamalanga okusinza, banaafulumiranga mu mulyango gwa mu bukiikaddyo. N'abo abanaayingiriranga mu mulyango ogw'omu bukiikaddyo, banaafulumiranga mu mulyango gwa mu bukiikakkono. Tewaabenga afulumira mu mulyango gwe yayingiriddemu, wabula mu ogwo ogugwolekedde mu maaso. Kabaka anaayingiranga wamu n'abantu nga bayingira, era anaafulumanga nga bafuluma. Ku mbaga ezaalagirwa, ne ku nnaku enkulu, ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke binaabanga efa eweerwayo ku buli nte, ne ku buli ndiga ennume. Ku ndiga ento, omuntu anaawangayo nga bw'ayagala okuwa. Buli efa ey'eŋŋaano, eneeweerwangako yini y'omuzigo ogw'emizayiti. “Kabaka bw'anaabangako ky'ategese okuwaayo gye ndi Nze Mukama, nga yeeyagalidde, ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba oba ekiweebwayo olw'okutabagana, banaamuggulirangawo omulyango gw'oluggya olwomunda ogutunudde ebuvanjuba. Anaategekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo by'awaayo olw'okutabagana, nga bw'akola ku lunaku olwa Sabbaato. Ebyo nga biwedde, anaafulumanga ebweru, ne baggalawo omulyango ng'amaze okufuluma.” Mukama agamba nti: “Buli lunaku, onootegekanga endiga ento eteriiko kamogo, n'eba ekiweebwayo gye ndi Nze Mukama ekyokebwa nga kiramba. Kinaategekebwanga buli nkya. Era okitegekerangako buli nkya ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, ekitundu eky'omukaaga ekya efa, n'ekimu ekyokusatu ekya yini ey'omuzigo ogw'emizayiti, ogw'okutabula n'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi. Ekiragiro eky'ekiweebwayo kino kinaabanga kya lubeerera. Buli nkya, endiga ento, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'omuzigo ogw'emizayiti, binaabanga ekiweebwayo gye ndi Nze Mukama ekyokebwa, ekyolubeerera.” Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Kabaka bw'anaabangako mutabani we gw'awa ekirabo eky'ettaka ku ttaka lye ly'alina, linaabanga lya baana ba mutabani we oyo ery'ensikirano. Kyokka kabaka bw'anaawanga ku ttaka lye omu ku baweereza be, ng'alimuwa ng'ekirabo, linaabanga ly'oyo gw'aliwadde okutuuka ku mwaka ogw'eddembe, ne liryoka liddira kabaka. kabaka ne batabani be, be bannyini lyo ab'olubeerera. Era kabaka taanyigirizenga bantu n'abaggyako obutaka bwabwe. Ettaka ly'agabira batabani be, linaabanga eryo lye yaweebwa, abantu bange balemenga kusaasaana buli muntu okuva mu butaka bwe.” Awo omusajja n'antwala awayingirirwa amayumba agatunuulidde ebukiikakkono, okumpi n'omulyango ogw'obukiikaddyo bw'oluggya olwomunda. Ago ge mayumba amatukuvu aga bakabona. Ne ndaba ekifo ku ludda lw'amayumba ago olw'ebugwanjuba. Omusajja n'aŋŋamba nti: “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ennyama ey'ekiweebwayo ng'omutango, n'ey'ekiweebwayo olw'ekibi, era we banaasiikiranga ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, baleme kubifulumya mu luggya olw'ebweru, ne biviirako abantu akabi.” Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, n'ampisa mu buli emu ku nsonda zaalwo ennya, ne ndaba nga buli nsonda mwalimu oluggya. Empya ezo ezaali mu nsonda ennya ez'oluggya, zaali zikomeddwa, era zonna ennya zaali zenkanankana, nga za mita amakumi abiri obuwanvu, ne mita kkumi na ttaano obugazi. Buli luggya, lwali lwetooloddwa olukomera olw'amayinja, oluzimbiddwako amasiga ag'okufumbiramu, wonna okwetooloola. Omusajja n'aŋŋamba nti: “Bino bye biyungu abaweereza b'omu Ssinzizo mwe banaafumbiranga ebitambiro ebiweebwayo abantu.” Awo omusajja n'anzizaayo ku luggi lw'Essinzizo. Ne ndaba amazzi nga gava wansi w'omulyango gw'Essinzizo, ne gakulukuta nga galaga ebuvanjuba Essinzizo gye lyali litunudde. Amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, ne gayita ku ludda lwa alutaari olw'ebukiikaddyo. Omusajja n'anfulumiza mu mulyango ogw'omu bukiikakkono, n'antwala n'anneetoolooza okutuuka ku mulyango ogutunudde ebuvanjuba. Ne ndaba amazzi nga gakulukutira ku ludda olwa ddyo olw'omulyango ogwo. Omusajja n'atambula ng'ayolekedde ebuvanjuba, ng'akutte olupimo mu mukono gwe. N'apima mita ebikumi bitaano n'aŋŋamba mpite mu mazzi. Amazzi ago, gaali gakoma mu bukongovvule. N'addamu n'apima mita ebikumi bitaano, n'ampisa mu mazzi. Gaali nga gakoma mu maviivi. N'apima mita endala ebikumi bitaano, amazzi ne gankoma mu kiwato. N'ayongera n'apima mita ebikumi bitaano, ne guba mugga gwe siyinza kusomoka, kubanga amazzi gaali gatumbidde nga tegasomokeka, okuggyako okugawuga obuwuzi. N'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ekyo okirabye?” Awo n'antwala, n'anzizaayo ku lubalama lw'omugga. Bwe nali nga nzirayo, ne ndaba nga ku lubalama lw'omugga, kuliko emiti mingi nnyo erudda n'erudda. Awo n'aŋŋamba nti: “Amazzi gano gakulukuta nga gadda ebuvanjuba, ne gaserengeta mu Kiwonvu kya Yorudaani, ne geeyiwa mu Nnyanja Enfu. Bwe gatuuka mu nnyanja eyo, galongoosa amazzi gaamu ne gaba malungi. Amazzi ago buli kifo mwe galikulukutira, buli kiramu ekigabeeramu, kiriba kiramu, era mulibaamu ebyennyanja bingi nnyo. Olw'amazzi ago agagenzeeyo, amazzi g'Ennyanja eyo Enfu galirongooka. Omugga guno buli gye gunaatuukanga, buli kintu kinaabanga kiramu. Abavubi baliyimirira ku mabbali gaagwo. Okuva mu Engedi okutuuka e Negulayimu, era walibaawo ekifo eky'okutegamu obutimba. Walibaayo ebyennyanja bingi ebya buli ngeri, nga bwe biri mu Nnyanja Eyaawakati. Naye amazzi mu bifo eby'ettosi ne mu ntobazzi ku mbalama zaagwo, tegalirongooka. Birirekebwa ne biba bya munnyo. Ku lubalama lw'omugga ogwo, erudda n'erudda kulimerako buli muti ogwa buli ngeri, ogubalako ebibala ebiriibwa. Emiti egyo tegiiwotokenga makoola, era tegiirekengayo kubala bibala. Buli mwezi ginaabalanga ebibala ebiggya, kubanga amazzi agagiriisa gava mu Kifo Ekitukuvu. Ebibala byagyo biriba mmere, n'amakoola gaagyo galiba ddagala eriwonya.” Awo Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Zino ze nsalo z'ensi gye muligabanyizaamu Ebika Ekkumi n'Ebibiri ebya Yisirayeli, ng'Ekika kya Yosefu kifuna emigabo ebiri. Nneerayirira okuwa ensi eno bajjajjammwe, kale mugigabananga kyenkanyi, ebe obutaka bwammwe. “Zino ze ziriba ensalo z'ensi eyo: ensalo ey'omu bukiikakkono eriva ku Nnyanja Ennene, n'ekwata ekkubo ery'e Hetulooni, n'etuuka awayingirirwa e Zedadi. Eriyitira Hamati, n'etuuka e Berota, n'e Siburayimu ekiri wakati w'ensalo eyawula obwakabaka bwa Damasiko n'obwa Hamati, n'egenda e Hazarittatikoni, ekiri ku nsalo ya Hawuraani. Kale ensalo ey'omu bukiikakkono, eriva ku Nnyanja Eyaawakati, n'ejja e Hazari Enoni ku ludda lw'ebuvanjuba, ku nsalo ne Damasiko, n'e Hamati ku ludda olw'ebukiikakkono. “Ensalo ey'omu buvanjuba okudda mu bukiikaddyo, eriva wakati wa Hawuraani ne Damasiko, n'ejja n'Omugga Yorudaani ogwawula Gileyaadi n'ensi ya Yisirayeli. Mulipima okuva ku nsalo ey'omu bukiikakkono, okutuuka ku Nnyanja Enfu mu buvanjuba, eyo n'eba ensalo ey'ebuvanjuba. “Ensalo ey'omu bukiikaddyo okudda mu ddungu, eriva ku Tamari, n'etuuka ku mazzi ag'e Meribati Kadesi, n'egenda n'akagga akali ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku Nnyanja Ennene. Eyo ye nsalo ey'ebukiikaddyo. “Ensalo ey'ebugwanjuba eriba Nnyanja Ennene, okuva ku nsalo ey'ebukiikaddyo, okutuuka mu kifo ekitunudde awayingirirwa mu Hamati. Eyo ye eriba ensalo ey'ebugwanjuba. “Muligabana ensi eno mu Bika byammwe. Muligigabana nga mukuba kalulu, n'eba yammwe ya nsikirano. N'abagwira ababeera mu mmwe, era abazaalidde mu mmwe abaana, nabo balifuna omugabo ogwabwe nga mugigabana mu Bika bya Yisirayeli. Balibalibwa nga bazaaliranwa abajjuvu mu Bayisirayeli era baligabanira wamu nammwe mu Bika bya Yisirayeli. Mu Kika omugwira mw'alibeera, mwe mulimuweera ettaka ery'ensikirano. Nze Mukama Afugabyonna, bwe ntyo bwe ndagidde.” Gano ge mannya g'Ebika: Daani aligabana ekitundu eky'ensikirano, ekitandikira ku nsalo ey'omu bukiikakkono ku mabbali g'ekkubo ly'e Hetulooni, okutuuka awayingirirwa mu Hamati, n'okweyongerayo e Hazari Enoni, ku nsalo ne Damasiko mu bukiikakkono, ku mabbali ga Hamati okuva ku nsalo ey'ebuvanjuba, okutuuka ku y'ebugwanjuba. Ekika kya Daani ekyo, kirifuna omugabo gumu. Aseri aligabana ekitundu ekiriraanye ensalo ne Daani, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, era alifuna omugabo gumu. Nafutaali aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Aseri, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. Manasse aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Nafutaali, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. Efurayimu aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Manasse, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Aligabana omugabo gumu. Rewubeeni aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Efurayimu okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. Yuda aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Rewubeeni, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. Okuliraana n'ekitundu kya Yuda, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, we waliba ekitundu kye mulirekawo ekyenjawulo. Obugazi bwakyo buliba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu, okuva mu bukiikakkono okutuuka mu bukiikaddyo, n'obuwanvu bwakyo nga bwenkana obw'emigabo gy'Ebika, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Essinzizo liribeera mu kyo wakati. Ekitundu ekyo kye mulyawulira Mukama, kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita kkumi obugazi. Bakabona balifuna ekitundu ku ttaka lino eriweereddwayo eri Mukama. Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, ekitundu kyabwe kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu, n'okuva ebukiikakkono okutuuka ebukiikaddyo, kilomita ttaano. Ekifo kya Mukama Ekitukuvu kiribeera wakati mu kyo. Ekitundu kino kiriba kya bakabona abaatukuzibwa, era ab'omu lulyo lw'ezzadde lya Zaddooki. Abo be baakuuma bye nalagira, abataawabira wamu na Bayisirayeli balala kukola bibi nga Baleevi bannaabwe bwe baawaba. Ekitundu kye balifuna, kiriggyibwa ku kitundu ky'ensi ekyayawulibwa, era kiriba ekitundu ekitukuvu ennyo. Kiriba kiriraanye n'eky'Abaleevi. Abaleevi nabo baliba n'ekitundu ekyabwe, nga kiriraanye n'ekya bakabona. Nakyo kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, okuva ebuvanjuba okudda ebugwanjuba, ne kilomita ttaano obugazi, okuva ebukiikakkono okudda ebukiikaddyo. Ekitundu kyonna awamu, ekya bakabona n'eky'Abaleevi, kiriba kilomita kkumi na bbiri obuwanvu, ne kilomita kkumi obugazi. Ekitundu ekyo, kye kitundu ekisinga obulungi mu nsi eyo yonna, era tebaakitundenga, wadde okukiwaanyisaamu ekirala, oba okukifuula eky'omulala, kubanga kyayawulirwa Mukama. Ekitundu ekisigaddewo ekya kilomita ekkumi n'ebbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita bbiri n'ekitundu obugazi, kiriba kya kukozesebwanga bantu bonna. Kiriba kya kuzimbamu kibuga, na kukolamu malundiro. Ekibuga kiribeera wakati mu kyo, era kiryenkanankana enjuyi zonna, mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano buli ludda. Ekibuga ekyo, kiryetooloolwa ekibangirizi kya mita kikumi mu abiri mu ttaano enjuyi zonna, ebukiikakkono n'ebukiikaddyo, ebuvanjuba n'ebugwanjuba. Ettaka erisigaddewo okuliraana n'ekitundu ekyawongebwa, obuwanvu bwalyo kilomita ttaano ebuvanjuba, ne kilomita ttaano ebugwanjuba, lye linaalimwangamu emmere eriisa abo abakola emirimu mu kibuga. Linaalimwangamu abo bonna abakola emirimu mu kibuga, abava mu Bika byonna ebya Yisirayeli. N'olwekyo ekitundu kyonna kye mulyawulako, kiriba kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu ku njuyi zonna, nga kizingiramu ekitundu ekyawongebwa, n'ekitundu eky'okuzimbamu ekibuga. Ekitundu ekisigaddewo ku njuyi zombi, ebuvanjuba n'ebugwanjuba w'ebitundu bino: eky'Essinzizo, n'eky'ettaka lya bakabona, n'ery'Abaleevi, n'ery'ekibuga, ebikiri wakati, kiriba kya kabaka. Ekitundu ekyo ekya kabaka nga kigoberera ensalo ezikyawula ku migabo gy'Ebika, kirimalirayo ddala obuwanvu obwa kilomita ekkumi n'ebbiri n'ekitundu, obuva ku nsalo ey'ebuvanjuba okutuuka ku y'ebugwanjuba. Ekitundu ekyayawulibwa, era n'Ekifo Ekitukuvu kyennyini, biriba wakati wa mugabo gwa kabaka. N'ettaka ly'Abaleevi n'ery'ekibuga, biriba wakati wa mugabo gwa kabaka, nga gwo guli wakati w'omugabo gwa Yuda mu bukiikakkono, n'omugabo gwa Benyamiini mu bukiikaddyo. N'ebika ebirala birigabana bwe biti: Benyamiini aligabana ekitundu ekitandikira ku nsalo ey'omu buvanjuba, ne kikoma ku nsalo ey'omu bugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. Simyoni aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Benyamiini, okuva ku ludda lw'ebuvanjuba okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. Yissakaari aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Simyoni, okuva ku ludda olw'ebuvanjuba, okutuuka ku ludda olw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. Zebbulooni aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Yissakaari, okuva ku ludda lw'ebuvanjuba, okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. Gaadi aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Zebbulooni, okuva ku ludda olw'ebuvanjuba, okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu. “Ku ludda olw'omu bukiikaddyo obw'ekitundu ekirigabanibwa Gaadi, ensalo y'ensi ya Yisirayeli eriva ku Tamari, n'etuuka ku mazzi ag'e Meribati Kadesi, n'egenda n'akagga akali ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku Nnyanja Ennene. Eyo ye nsi gye muligabanyaamu nga mukuba kalulu, ne mu giwa Abayisirayeli mu Bika byabwe, ebe obutaka bwabwe, era egyo gye migabo gyabwe.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba. Gino gye giriba emiryango gy'Ekibuga Yerusaalemu: oludda olw'omu bukiikakkono, oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano obuwanvu, lulibaako emiryango esatu egirituumibwa amannya g'Ebika bya Yisirayeli. Omulyango gwa Rewubeeni, gumu; Omulyango gwa Yuda, gumu; n'Omulyango gwa Leevi, gumu. N'oludda olw'ebuvanjuba, oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Yosefu, gumu; Omulyango gwa Benyamiini, gumu; n'Omulyango gwa Daani; gumu. N'oludda olw'omu bukiikaddyo oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Simyoni, gumu; Omulyango gwa Yissakaari, gumu; n'Omulyango gwa Zebbulooni, gumu. Oludda olw'ebugwanjuba, nalwo oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Gaadi, gumu; Omulyango gwa Aseri, gumu; n'Omulyango gwa Nafutaali, gumu. Obuwanvu bwonna obw'ekisenge ekyetooloola Ekibuga, buliba mita kenda. Era Ekibuga ekyo okuva olwo kinaayitibwanga “Mukama ali omwo.” Mu mwaka ogwokusatu nga Yehoyakiimu ye kabaka wa Buyudaaya, Nebukadunezzari kabaka w'e Babilooni, n'alumba Yerusaalemu, n'akizingiza. Mukama n'amuleka okuwamba Yehoyakiimu kabaka wa Buyudaaya, awamu n'ebintu ebimu eby'omu Ssinzizo, n'abitwala mu nsi y'e Sinaari, mu ssabo lya lubaale we, n'abiteeka mu materekero g'essabo eryo. Kabaka n'alagira Asupenazi, omukulu w'abaweereza be abalaawe, alonde mu Bayisirayeli abawambe, abamu ku balenzi ab'olulyo olulangira, n'abamu ku batabani b'abakungu. Yalina okulonda abavubuka abataliiko kamogo ku mibiri gyabwe, era abalabika obulungi, abagezi, era abangu okuyigirizibwa, abagunjuddwa obulungi, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenazi yalagirwa abayigirize okusoma, okuwandiika, n'okwogera olulimi lw'Abakaludaaya. Kabaka n'alagira nti buli lunaku babawenga emmere n'omwenge eby'oku lujjuliro lwa kabaka, babaliisenga bwe batyo okumala emyaka esatu, bwe giriggwaako, balyoke babatwale babanjule mu maaso ga kabaka. Mu baalondebwa mwe mwali Daniyeli, Hananiya, Misayeli ne Azariya, bonna nga ba mu Kika kya Yuda. Omukulu w'abaweereza abalaawe n'atuuma abalenzi abo amannya gano: Daniyeli n'amutuuma Belutesazzari, Hananiya n'amutuuma Saduraki, Misayeli n'amutuuma Meesaki, Azariya n'amutuuma Abedinego. Naye Daniyeli n'ateesa mu mutima gwe, obuteefuula atali mulongoofu ng'alya emmere, era ng'anywa omwenge ku lujjuliro lwa kabaka, kyeyava asaba Asupenazi amuyambe. Ne Katonda n'awa Daniyeli okwagalibwa n'okusaasirwa Asupenazi, omukulu w'abaweereza ba kabaka. Kyokka omukulu w'abaweereza oyo, n'agamba Daniyeli nti: “Mukama wange kabaka mmutya. Ye yennyini ye yalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga. Kale singa temulabika bulungi nga bavubuka bannammwe abalala, obulamu bwange kabaka ayinza okubukolako akabi.” Daniyeli n'agamba omusigire, Asupenazi gwe yakwasa ogw'okulabirira Daniyeli, Hananiya, Misayeli, ne Azariya nti: “Nkwegayiridde otugezese okumala ennaku kkumi, ffe abaweereza bo, batuwenga birime byokka bye tubanga tulya, era na mazzi ge tubanga tunywa. Olwo olitugeraageranya n'abavubuka abalya emmere eva ku lujjuliro lwa kabaka, olyoke osalewo eky'okukola okusinziira ku ndabika gye tuliba tulabikamu.” Omusigire n'akkiriza okubagezesa okumala ennaku kkumi, nga bwe baamusaba. Ennaku ekkumi bwe zaggwaako, abavubuka abo ne balabika bulungi, era nga bagevvu okusinga abavubuka abalala bonna, abaalyanga emmere eva ku lujjuliro lwa kabaka. Okuva olwo, omusigire n'abaggya ku mmere ne ku mwenge gwe bandibadde banywa, n'abawa birime byokka. Katonda n'awa abavubuka abo abana amagezi n'okutegeera mu bisomebwa n'ebiyigibwa byonna, ate ye Daniyeli, n'ayongerwako okutegeeranga n'okuvvuunulanga okulabikirwa era n'ebirooto. Ekiseera Kabaka Nebukadunezzari kye yalagira banjulibwe gy'ali bwe kyatuuka, omukulu w'abaweereza n'abatwala, n'abamwanjulira. Kabaka n'ayogera nabo, era mu bonna, n'asinga kusiimamu Daniyeli, Hananiya, Misayeli, ne Azariya. Abo abana kyebaava bafuulibwa abaweereza ba kabaka. Mu buli ky'amagezi n'ekyokutegeera kabaka kye yababuuza, yalaba nga basinga emirundi kkumi abafuusa n'abalaguzi bonna ab'omu bwakabaka bwe bwonna. Daniyeli n'asigala mu lubiri lwa kabaka okutuusa mu mwaka ogusooka ogwa Kabaka Kuuro. Nebukadunezzari n'aloota ekirooto mu mwaka ogwokubiri ogw'obwakabaka bwe, ne kimweraliikiriza nnyo, ne kimubuza otulo. Awo n'atumya abalaguzi, n'abafuusa, n'emmandwa, era n'abeetegereza eby'emmunyeenye, bajje bamubuulire kye yaloose. Ne bajja ne beeyanjula mu maaso ge. Kabaka n'abagamba nti: “Naloose ekirooto, ne neeraliikirira nga njagala okumanya kye naloose.” Abeetegereza eby'emmunyeenye ne bagamba kabaka mu lulimi Olwaramayika nti: “Wangaala, ayi Ssaabasajja! Tukwegayiridde tubuulire kye waloose, ffe abaweereza bo, tukubuulire amakulu gaakyo.” Kabaka n'abaddamu nti: “Mmaliridde nti bwe mutantegeeze kye naloose era n'amakulu gaakyo, mujja kutemebwatemebwa, n'ennyumba zammwe zifuulibwe matongo. Naye bwe munambuulira kye naloose, era n'amakulu gaakyo, nja kubawa ebirabo n'empeera, era mbafuule baakitiibwa nnyo. Kale mumbuulire kye naloose, era n'amakulu gaakyo.” Ne baddamu omulundi ogwokubiri nti: “Ayi kabaka, tubuulire kye waloose, ffe abaweereza bo, tukubuulire amakulu gaakyo.” Kabaka n'addamu nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nga mwagala kumala biseera, kubanga mulabye nga mmaliridde okubabonereza mwenna awamu, bwe mutambuulire kye naloose. Mwekobaanye okulimba n'okwogera ebitali bituufu mu maaso gange, nga musuubira nti ebintu bijja kukyuka ng'ekiseera kiyiseewo. Kale mumbuulire kye naloose, ndyoke ntegeere nga muyinza n'okuntegeeza amakulu gaakyo.” Abeetegereza eby'emmunyeenye ne baddiramu mu maaso ga kabaka nti: “Tewali muntu n'omu ku nsi ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Tewali kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, eyali abuuzizza omulaguzi, wadde omufuusa, newaakubadde oyo eyeetegereza eby'emmunyeenye, ekintu ekifaanana ng'ekyo. Ekyo ky'osaba, ayi Ssaabasajja, kizibu nnyo, era tewali ayinza kukikumanyisa, okuggyako balubaale, ate balubaale tebabeera mu ffe bantu.” Awo kabaka n'asunguwala nnyo, ne yeekalamula, n'alagira okutta abawi b'amagezi bonna mu Babilooni. Ekiragiro ne kiyisibwa nti abawi b'amagezi bonna battibwe. Ne banoonya Daniyeli ne banne nabo okubatta. Awo Daniyeli n'atuukirira Ariyooki, omukulu w'abaserikale ba kabaka, eyajja okutta abawi b'amagezi ab'omu Babilooni, n'ayogera naye n'amagezi era n'obwegendereza. N'abuuza Ariyooki omukungu wa kabaka nti: “Lwaki kabaka ayanguyirizza okuwa ekiragiro ekyo?” Ariyooki n'akinnyonnyola Daniyeli. Daniyeli n'agenda ne yeegayirira kabaka amuwe obudde, asobole okumutegeeza amakulu g'ekirooto. Daniyeli n'addayo ewuwe, n'ategeeza Hananiya, Misayeli, ne Azariya, ebibaddewo, basabe Katonda ow'omu ggulu abakwatirwe ekisa ku by'ekyama ekyo, baleme kuttirwa wamu n'abawi b'amagezi abalala ab'omu Babilooni. Ekiro ekyo Daniyeli n'abikkulirwa ekyama ekyo mu kulabikirwa, n'atendereza Katonda ow'omu ggulu, ng'agamba nti: “Katonda atenderezebwe emirembe n'emirembe, kubanga mugezi era wa maanyi. Ye akyusa ebiseera n'obudde, ye aggyawo era ye assaawo bakabaka. Ye awa abantu amagezi, era ye abagabira okutegeera. Abikkula ebikusifu era eby'ekyama. Amanyi ebiri mu kizikiza, era yeetooloddwa ekitangaala. Nkwebaza, nkutendereza, ayi Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye. Otumanyisizza ekyo, kabaka kye yeetaaga.” Awo Daniyeli n'agenda eri Ariyooki, kabaka gwe yali alagidde okuzikiriza abawi b'amagezi ab'omu Babilooni, n'amugamba nti: “Tozikiriza bawi ba magezi ab'omu Babilooni. Ntwala eri kabaka, nze nja kumutegeeza amakulu g'ekirooto kye.” Amangwago Ariyooki n'atwala Daniyeli mu maaso ga kabaka. Ariyooki n'agamba kabaka nti: “Nzudde omu ku Bayudaaya abaanyagibwa, ajja okukutegeeza amakulu g'ekirooto kyo.” Mu kuddamu, kabaka n'agamba Daniyeli, erinnya lye eddala Belutesazzari, nti: “Oyinza ggwe okuntegeeza ekirooto kye naloota, era n'amakulu gaakyo?” Daniyeli n'addamu nti: “Ayi Ssaabasajja, ekyama ky'osabye, teri bawi ba magezi bayinza kukikutegeeza, wadde abafuusa, n'abalaguzi, n'abeetegereza eby'emmunyeenye. Naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama. Oyo akumanyisizza, ayi Ssaabasajja Nebukadunezzari, ebiribaawo mu biseera ebijja. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwalagibwa mu kitanda kyo, bye bino. “Bwe wali mu kitanda kyo nga weebase, ayi Ssaabasajja, waloota ebiribaawo, era Katonda abikkula ebyama, yakulaga ebiribaawo. Naye nze, ekyama kino kimbikkuliddwa, si lwa kuba nti ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna abalamu, wabula kimbikkuliddwa olyoke omanye, ayi Ssaabasajja, amakulu g'ekirooto kyo, era otegeere ebirowoozo ebyakujjira. “Watunula, ayi Ssaabasajja, n'olaba ekifaananyi ekinene, nga kiyimiridde mu maaso go. Ekifaananyi ekyo kyali kimasamasa nnyo, era nga kya ntiisa. Omutwe gwakyo, gwali gwa zaabu omulungi. Ekifuba kyakyo n'emikono gyakyo, byali bya ffeeza. Olubuto lwakyo n'ebisambi byakyo, byali bya kikomo. Amagulu gaakyo, gaali ga kyuma. Ebigere byakyo, ekitundu nga kya kyuma, ate ekitundu nga kya bbumba. Bwe wali okyakitunuulira, ejjinja eddene ne limogoka lyokka ku lwazi, nga tewali alikutteko, ne likuba ebigere by'ekifaananyi eby'ekyuma n'ebbumba, ne libimenyaamenya. Olwo ekyuma, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu, ne bimementukira wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo na kalabika. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne libuna ensi yonna. “Ekyo kye kyali ekirooto. Kaakano ka tukubuulire, ayi Ssaabasajja, amakulu gaakyo. Ggwe, ayi Ssaabasajja, ggwe kabaka afuga bakabaka bonna. Katonda ow'omu ggulu yakuwa obwakabaka, n'obuyinza, n'amaanyi, n'ekitiibwa. Yassa mu buyinza bwo abantu, n'ebisolo, n'ebinyonyi, n'akufuula omufuzi waabyo byonna, yonna gye bibeera. Ggwe mutwe ogwa zaabu. Bw'olivaawo, waliddawo obwakabaka obulala obutenkana bubwo. Era obwo buliddirirwa obwakabaka obwokusatu obw'ekikomo, obulifuga ensi yonna. Obwakabaka obwokuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya ebintu byonna ne kibijeemulula. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna. Era nga bwe walaba ebigere n'obugere, ng'ekitundu kya bbumba lya mubumbi, ate ekitundu nga kya kyuma, obwakabaka obwo buliba bwawulemu. Bulibaamu ku maanyi ag'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba. Obugere, ng'ekitundu bwa kyuma, ate ekitundu nga bwa bbumba, butegeeza nti obwakabaka obwo nabwo bwe buliba bwe butyo: ng'ekitundu bwa maanyi, ate ekitundu nga bunafu. Era walaba ekyuma nga kitabuddwa n'ebbumba. Bwe batyo n'abafuzi b'obwakabaka obwo, baligezaako okwegattira mu kufumbiriganwa, naye tebalisobola, ng'ekyuma bwe kitasobola kwetabula na bbumba. Mu mirembe gy'abafuzi abo, Katonda ow'omu ggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa emirembe gyonna. Tebuliwangulwa bantu balala, naye bulimenyaamenya, ne buzikiriza obwakabaka obulala bwonna, bwo ne bubeerawo ennaku zonna. Walaba ejjinja nga bwe lyamogoka lyokka ku lusozi nga tewali alikutteko, era nga bwe lyamenyaamenya ekyuma n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu. Katonda akumanyisizza ebiribaawo gye bujja. Ekirooto kye kyo kikakafu, n'amakulu gaakyo geego, tegabuusibwabuusibwa.” Awo Kabaka Nebukadunezzari n'avuunama ku ttaka, n'assaamu Daniyeli ekitiibwa. N'alagira okuwa Daniyeli oyo ekitambiro n'okumunyookeza obubaane. Kabaka n'agamba Daniyeli nti: “Lubaale wammwe ye Lubaale akulira balubaale, era ye mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga osobodde okubikkula ekyama ekyo.” Kabaka n'alyoka afuula Daniyeli omukulu, n'amuwa ebirabo bingi nnyo, n'amuwa n'okufuga ekitundu kyonna eky'e Babilooni. Daniyeli n'asaba kabaka, bw'atyo kabaka n'awa Saduraki, Mesaki, ne Abedinego obukulu mu bufuzi bw'ekitundu ky'e Babilooni. Wabula ye Daniyeli n'asigala mu lubiri lwa kabaka. Kabaka Nebukadunezzari n'aweesa ekifaananyi ekya zaabu, mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu, ne mita kumpi ssatu obugazi, n'akiteeka mu lusenyi lw'e Duura, mu kitundu ky'e Babilooni. Awo Nebukadunezzari kabaka n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi b'amagezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna aba buli kitundu, babeerewo mu kuwonga ekifaananyi ekyo, Kabaka Nebukadunezzari kye yateekawo. Olwo ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi b'amagezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna aba buli kitundu, ne bakuŋŋaana olw'okuwonga ekifaananyi ekyo, Nebukadunezzari kabaka kye yateekawo, ne bayimirira mu maaso gaakyo. Awo omulangirizi n'alangirira mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Mmwe, abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, mulagirwa nti bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, munaavuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu, Nebukadunezzari kabaka ky'ataddewo. Era buli anaagaana okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo, ajja kusuulibwa mangwago mu kabiga k'omuliro ogubugujja.” Awo abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Nebukadunezzari kabaka kye yateekawo. Mu kiseera ekyo, Abakaludaaya abamu ne bajja ne baloopa Abayudaaya. Ne bagamba Kabaka Nebukadunezzari nti: “Ayi Ssaabasajja, wangaala! Ggwe wateeka etteeka, ayi Ssaabasajja, nti buli anaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu; era nti buli anaagaana okuvuunama n'okusinza, anaasuulibwa mu kabiga k'omuliro ogubugujja. Waliwo Abayudaaya abamu be wateekawo okulabirira ekitundu ky'e Babilooni, amannya gaabwe Saduraki, Mesaki, ne Abedinego. Abasajja abo, ayi Ssaabasajja, bakunyooma. Tebasinza balubaale bo, wadde okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye wateekawo.” Awo Nebukadunezzari n'akwatibwa obusungu n'ekiruyi, n'alagira baleete Saduraki, Mesaki, ne Abedinego. Ne babaleeta mu maaso ge. N'ababuuza nti: “Mmwe, Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, ddala kituufu mugaanye okusinza lubaale wange, n'okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye nateekawo? Kale kaakano, bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne muvuunama ne musinza ekifaananyi kye nakola, kinaaba kirungi. Naye bwe munaagaana okusinza, amangwago mujja kusuulibwa mu kabiga k'omuliro ogubugujja. Era Lubaale ki oyo anaabawonya, n'abaggya mu buyinza bwange?” Saduraki, Mesaki, ne Abedinego ne baddamu kabaka nti: “Ayi Ssaabasajja, tekitwetaagisa na kwewozaako ku nsonga eno. Bwe kunaaba kusuulibwa mu muliro, Katonda waffe gwe tusinza, asobola bulungi okutuggya mu kabiga k'omuliro ogubugujja, n'okutuwonya n'atuggya mu buyinza bwo. Kyokka ne bw'anaaba tatuwonyezza, manya, ayi Ssaabasajja, nga tetujja kusinza balubaale bo, wadde okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye wateekawo.” Awo Nebukadunezzari n'ajjula obusungu, n'atunuuliza Saduraki, Mesaki, ne Abedinego amaaso ag'obukambwe, n'alagira bakume akabiga k'omuliro, kabugujje emirundi musanvu okusinga bwe kaali kabuguzze. Era n'alagira abamu ku basinga amaanyi mu ggye lye, basibe Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, babasuule mu kabiga k'omuliro ogubugujja. Abasajja abo ne basibibwa nga bali mu ngoye zaabwe: eminagiro gyabwe, n'ekkanzu zaabwe, n'eby'oku mitwe byabwe, na buli kimu kye baali bambadde, ne basuulibwa wakati mu kabiga k'omuliro ogubugujja. Era kubanga kabaka yali alagidde okukuma akabiga k'omuliro kabugujje nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaasuula Saduraki, Mesaki, ne Abedinego mu kabiga ako. Abasajja abo bonsatule, Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, nga basibiddwa, ne bagwa wakati mu kabiga k'omuliro ogubugujja. Awo Nebukadunezzari n'asamaalirira, n'asituka mangu, n'abuuza abakungu be nti: “Tetwasibye abasajja basatu ne tubasuula wakati mu kabiga k'omuliro?” Ne bamuddamu nti: “Bwe kiri, ayi Ssaabasajja.” N'agamba nti: “Ate nga ndaba abasajja bana, nga basumuluddwa, batambulira mu muliro wakati, nga tebaliiko kabi! N'owookuna afaanana ng'omu ku balubaale.” Awo Nebukadunezzari n'asembera kumpi n'omulyango gw'akabiga k'omuliro ogubugujja. N'akoowoola nti: “Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, mmwe abaweereza ba Lubaale Atenkanika, mufulume, mujje wano.” Saduraki, Mesaki, ne Abedinego ne bavaayo mu muliro. Ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abakungu ba kabaka abalala bonna, ne bakuŋŋaana, ne balaba abasajja abo, omuliro be gutaakolako kabi. Enviiri zaabwe tezaayokebwako, engoye zaabwe tezaggya, era nga tebawunya bbabe lya muliro. Nebukadunezzari n'agamba nti: “Lubaale wa Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, atenderezebwe. Atumye malayika we n'awonya abaweereza be bano abamwesize, ne bawakanya ekiragiro kyange nze kabaka, ne bateeka obulamu bwabwe mu kabi, baleme okusinza wadde okuvuunamira lubaale omulala yenna okuggyako Lubaale owaabwe. Kale kaakano nteeka etteeka nti abantu aba buli kika, n'aba buli ggwanga, n'aba buli lulimi, abanaayogeranga obubi ku Lubaale wa Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, ba kutemebwatemebwa, n'ennyumba zaabwe zifuulibwe matongo, kubanga tewali lubaale mulala ayinza kuwonya mu ngeri eyo.” Awo kabaka n'alyoka akuza Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, mu kitundu ky'e Babilooni. Buno bwe bubaka Nebukadunezzari kabaka bwe yaweereza abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, abali mu nsi yonna nti: “Emirembe gyeyongere okwala mu mmwe. Ndowoozezza nga kirungi okubalaga ebyewuunyo n'ebyamagero, Lubaale Atenkanika bye yankolera. Ebyewuunyo bye nga bikulu! Ebyamagero bye nga bya maanyi! Obwakabaka bwe bwa lubeerera, n'obufuzi bwe si bwa kuggwaawo. “Nze Nebukadunezzari, nali neewummulidde mu nnyumba yange, nga ndi mirembe mu lubiri lwange, ne ndoota ekirooto ekyantiisa. N'ebyo bye nalowoolereza, n'ebyanzijira mu mutwe gwange nga ngalamidde ku kitanda kyange, byanneeraliikiriza, kyennava ndagira okundeetera abawi b'amagezi bonna mu Babilooni, bantegeeze amakulu g'ekirooto ekyo. Awo abalaguzi, n'abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo, ne bajja ne mbalootololera ekirooto kyange, naye ne batantegeeza makulu gaakyo. Naye oluvannyuma Daniyeli n'ajja gyendi. Daniyeli oyo, erinnya lye eddala ye Belutesazzari, nga lubaale wange bw'ayitibwa, era mwoyo wa balubaale abatukuvu amulimu. Kale ne mmulootololera ekirooto nti: ‘Ggwe Belutesazzari, omukulu w'abalaguzi, mmanyi nga mwoyo wa balubaale abatukuvu akulimu, era nga tewali kyama kikulema. Kale mbuulira bye nalaba mu kirooto kyange, era ontegeeze n'amakulu g'ekirooto ekyo.’ “Ebyanzijira mu mutwe gwange nga ndi ku kitanda kyange, byali bwe biti: natunula, ne ndaba omuti mu makkati g'ensi, nga mugulumivu nnyo. Ne gukula ne guba gwa maanyi, ne guwanvuwa okutuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi. Gwalina ebikoola birungi, n'ebibala bingi, ebimala okuliisa ensi yonna. Ebisolo byeggamanga mu kisiikirize kyagwo, n'ebinyonyi ne bisula mu matabi gaagwo. Era ebiramu byonna ebirina omubiri, ne biryanga ku muti ogwo. “Mu byanzijira mu mutwe gwange nga ndi mu kitanda kyange, mwe nalabira omubaka omutukuvu akka, ng'ava mu ggulu. N'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Temawo omuti ogwo, ogusonjoleko amatabi, okunkumule ebikoola byagwo, osaasaanye ebibala byagwo. Goba ebisolo bive wansi waagwo, n'ebinyonyi bive mu matabi gaagwo. Naye leka ekikolo n'emirandira gyakyo mu ttaka, nga kisibiddwako olujegere olw'ekyuma n'ekikomo, mu muddo omuto. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo, era abeerenga wamu n'ebisolo mu ttale. Omuntu oyo aggyibweko amagezi ag'omuntu, aweebwe amagezi ag'ensolo, okumala emyaka musanvu. Eryo lye tteeka abakuumi abatukuvu lye bataddewo, era ekyo kye basazeewo, abantu bonna balyoke bategeere ng'Oyo Atenkanika ye afuga obwakabaka bw'abantu, era nga ye abuwa gw'ayagala, era ng'ayinza n'okubuwa oyo asingayo okuba omunafu.’ “Ekyo kye kirooto, nze Kabaka Nebukadunezzari kye naloota. Kale, ggwe, Belutesazzari, mbuulira amakulu gaakyo, kubanga abawi b'amagezi bange bonna ab'omu bwakabaka bwange, baalemeddwa okuntegeeza amakulu gaakyo, naye ggwe osobola, kubanga mwoyo wa balubaale abatukuvu, akulimu.” Awo Daniyeli era ayitibwa Belutesazzari, n'amala akabanga ng'asobeddwa, nga yeeraliikirira olw'ebyo by'alowooza. Kabaka n'amugamba nti: “Belutesazzari, ekirooto n'amakulu gaakyo bireme kukweraliikiriza.” Belutesazzari n'addamu nti: “Mukama wange kyandibadde kirungi, ekirooto ekyo kibe ku bakukyawa, n'amakulu gaakyo gabe ku balabe bo. Omuti gwe walabye, ogwakuze ne guba ogw'amaanyi, nga mugulumivu okutuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi, ebikoola byagwo nga birungi, n'ebibala byagwo nga bingi, ebisobola okuliisa ensi yonna, ebisolo ne bibeera wansi waagwo, n'ebinyonyi ne bisula mu matabi gaagwo, omuti ogwo ye ggwe, ayi Ssaabasajja, akuze n'oba wa maanyi, ekitiibwa kyo ne kyeyongera ne kituuka ku ggulu, n'obuyinza bwo ne bubuna mu nsi yonna. “Era bwe watunudde, walabye omukuumi omutukuvu ng'akka, ng'ava mu ggulu, n'agamba nti: ‘Temawo omuti oguzikirize, naye oleke ekikolo n'emirandira gyakyo mu ttaka, nga kisibiddwako olujegere olw'ekyuma n'ekikomo, mu muddo omuto. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo, era abeerenga wamu n'ebisolo mu ttale, okumala emyaka musanvu.’ “Amakulu geego, ayi Ssaabasajja, era ekyo Oyo Atenkanika ky'alagidde kikutuukeko, mukama wange kabaka. Ojja kugobebwa ove mu bantu, obeerenga wamu n'ebisolo eby'omu ttale. Ojja kumala emyaka musanvu ng'olya muddo ng'ente, era onoosulanga bweru ogwibwengako omusulo, okutuusa lw'olitegeera nga Oyo Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa gw'aba ayagadde okubuwa. Era nga bwe baalagidde okulekawo ekikolo n'emirandira gy'omuti, obwakabaka bwo bulikuddizibwa, bw'olimala okutegeera ng'Eggulu lye lifuga. Kale, ayi Ssaabasajja, kkiriza amagezi ge nkuwa: mu kifo ky'ebibi by'obadde okola, kola birungi; era mu kifo ky'okwonoona, kolera abali mu bwetaavu eby'ekisa, olwo mpozzi lw'oneeyongera okuba obulungi.” Ebyo byonna byatuuka ku Kabaka Nebukadunezzari. Bwe waayitawo emyezi kkumi n'ebiri, yali atambula mu lubiri lw'e Babilooni, n'agamba nti: “Kino si ye Babilooni kye nazimba n'amaanyi gange, era n'ekitiibwa ky'obukulu bwange, okuba olubiri lw'obwakabaka?” Kabaka yali akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Obubaka buno bubwo, ggwe Kabaka Nebukadunezzari: obwakabaka bukuggyiddwako. Ojja kugobebwa ove mu bantu, obeerenga wamu n'ebisolo eby'omu ttale. Ojja kumala emyaka musanvu ng'olya muddo ng'ente, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa gw'aba ayagadde.” Mu kaseera ako kennyini, ebigambo ebyo ne bituukirira ku Nebukadunezzari. N'agobebwa n'ava mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, omusulo ne gugwa ku mubiri gwe, enviiri ze ne zikula okwenkana ebyoya by'empungu, n'enjala ze ne ziwanvuwa ng'ez'ebinyonyi. “Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, nze Nebukadunezzari ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, ne nziramu okutegeera, ne neebaza Oyo Atenkanika, ne mmutendereza, ne mmuwa ekitiibwa, Oyo Omulamu emirembe gyonna: kubanga obufuzi bwe bwa lubeerera, n'obwakabaka bwe bwa mirembe gyonna. Abatuuze b'oku nsi bonna, ababala ng'abataliiwo. Era akola nga bw'ayagala mu ggye ery'omu ggulu, ne mu batuuze b'oku nsi. Tewali ayinza kuziyiza ky'ayagala okukola, wadde okumubuuza nti: ‘Okola ki?’ “Mu kiseera ekyo ne nziramu okutegeera, n'ekitiibwa kyange eky'obwakabaka, n'obukulu bwange, n'ettutumu, ne binzirira. Abakungu bange n'abaami, ne bannoonya, ne bankomyawo ku bwakabaka bwange, n'obukulu bwange ne bweyongerako n'okusinga bwe bwali edda. “Kaakano nze Nebukadunezzari ntendereza, ngulumiza, era nzisaamu ekitiibwa Katonda w'Eggulu, kubanga buli ky'akola kituufu, na buli ky'asalawo kya bwenkanya.” Belusazzari kabaka, yagabula abakungu be lukumi ekijjulo makeke, n'anywa nabo omwenge. Belusazzari bwe yanywa ku mwenge n'awoomerwa, n'alagira baleete ebikopo ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadunezzari kitaawe bye yaggya mu Ssinzizo e Yerusaalemu, ye kabaka, n'abakungu be, n'abakyala be, era ne baganzi be, babinyweremu. Awo ne baleeta ebikopo ebya zaabu bye baggya mu Ssinzizo, ye nnyumba ya Katonda ey'omu Yerusaalemu. Kabaka, n'abakungu be, n'abakyala be, era ne baganzi be, ne babinyweramu. Ne banywa omwenge, ne batendereza balubaale aba zaabu n'aba ffeeza, ab'ekikomo, n'ab'ekyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja. Baalabira awo ng'engalo z'omukono gw'omuntu ziwandiika ku kisenge ky'olubiri lwa kabaka, mu maaso g'ekikondo ky'ettaala. Kabaka n'alaba ekitundu ky'omukono nga kiwandiika. Endabika ya kabaka n'ekyuka, kabaka ne yeeraliikirira nnyo, n'akankana, n'amaviivi ge ne gakubagana. N'aleekaana baleete abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo. Abagezi ab'omu Babilooni abo bwe bajja, kabaka n'abagamba nti: “Oyo anaasoma ekiwandiiko ekyo, n'antegeeza amakulu gaakyo, ajja kwambazibwa ekyambalo eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago, ogwambalwa abakungu, era anaaweebwa ekifo ekyokusatu eky'obufuzi mu bwakabaka.” Awo abawi b'amagezi bonna aba kabaka ne bayingira, naye ne batayinza kusoma kiwandiiko ekyo, wadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo. Kabaka Belusazzari ne yeeyongera okutya ennyo, endabika ye n'ekyuka, abakungu be ne basoberwa. Nnamasole bwe yawulira akacankalano akaali mu kisenge kabaka n'abakungu be mwe baali ku kijjulo, n'ayingira mu kisenge ekyo. N'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, wangaala! Leka kweraliikirira, na kukyuka mu ndabika yo. Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, alimu mwoyo wa balubaale abatukuvu. Ne mu mulembe gwa kitaawo, okulengera ewala, n'okutegeera, n'amagezi ng'aga balubaale, byalabikira mu musajja oyo. Ssekabaka Nebukadunezzari kitaawo, n'amufuula omukulu w'abalaguzi, n'abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo, kubanga alina omutima omulungi, muntu mugezi, era mumanyirivu mu kuvvuunula ebirooto, ne mu kunnyonnyola ebikisiddwa, era n'ebintu ebizibu okumanya. Kale bayite Daniyeli oyo, ssekabaka gwe yatuuma erinnya Belutesazzari, ye anaakutegeeza amakulu g'ekiwandiiko ekyo.” Awo Daniyeli n'aleetebwa mu maaso ga kabaka. Kabaka n'amubuuza nti: “Ggwe Daniyeli oyo, omu ku Bayudaaya abaanyagibwa, ssekabaka kitange be yaggya mu Buyudaaya? Mpulidde bye bakwogerako, nti mwoyo wa balubaale akulimu, era ng'olina okulengera ewala, n'okutegeera, n'amagezi agatasangikasangika. Abawi b'amagezi n'abalaguzi baleeteddwa wano mu maaso gange, basome ebyo ebiwandiikiddwa, era bantegeeze amakulu gaabyo, naye ne balemwa okulaga amakulu g'ebigambo ebyo. Naye ggwe mpulidde bakwogerako, nti oyinza okuvvuunula amakulu agakisiddwa, n'okunnyonnyola ebizibu okumanya. Kale bw'onooyinza okusoma ebyo ebiwandiikiddwa, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, ojja kwambazibwa ekyambalo ekya kakobe eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, ogwambalwa abakungu, era obe omukulu owookusatu mu bwakabaka.” Awo Daniyeli n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti: “Ebirabo byo n'empeera yo byesigalize, oba biwe mulala. Naye nze, ayi Ssaabasajja, nja kukusomera ebyo ebiwandiikiddwa, era nkutegeeze amakulu gaabyo. “Ayi Ssaabasajja, Katonda Atenkanika yawa Nebukadunezzari kitaawo obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, n'obukulu. Era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna baatyanga ne bakankana mu maaso ge. Yattanga gwe yayagalanga okutta, n'ataliza gwe yayagalanga okutaliza. Era yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, n'atoowaza gwe yayagalanga okutoowaza. Kyokka bwe yeekuza n'akakanyaza omutima gwe, n'akola eby'okwekulumbaza, olwo n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'aggyibwako ekitiibwa kye. N'agobebwa n'ava mu bantu, amagezi ge ne gafuulibwa ng'ag'ensolo, n'abeeranga wamu n'entulege, n'alya omuddo ng'ente. N'asulanga ebweru, n'atoba omusulo ogumugwako, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era nga buli gw'aba ayagadde okubuwa gw'abuwa. “Naye naawe Belusazzari, mutabani we, teweetoowazizza, newaakubadde ng'ebyo byonna wabimanya. Weepankidde ku Mukama w'Eggulu, ne baleeta mu maaso go ebikopo eby'omu Ssinzizo lye, ggwe, n'abakungu bo, abakyala bo, ne baganzi bo, ne mubinyweramu omwenge, n'otendereza balubaale aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ekikomo, ab'ekyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, abatawulira, era abatategeera. Naye Katonda oyo alina obuyinza ku bulamu bwo, era abulabirira mu byonna tomusizzaamu kitiibwa, kyavudde atuma ekitundu ky'omukono ne kiwandiika ebigambo ebyo. “Era ebiwandiikiddwa bye bino: MENE, MENE, TEKEL, UPARSIN. ” Amakulu g'ebigambo ebyo ge gano: MENE: “Katonda abaze ennaku z'obufuzi bwo, n'alaba nga ziweddeko.” TEKEL: “Opimiddwa ku minzaani, n'osangibwa ng'obulako.” PERES: “Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n'Abaperusi.” Awo Belusazzari n'alagira ne bambaza Daniyeli ekyambalo ekya kakobe eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, ogwambalwa abakungu, era ne bamulangirira nti ye anaabanga omukulu owookusatu mu bwakabaka. Mu kiro ekyo kyennyini, Belusazzari kabaka Omukaludaaya, n'attibwa. Dariyo Omumeedi, eyali ow'emyaka enkaaga mu ebiri, n'afuuka kabaka. Dariyo n'asalawo okuteekawo abafuzi b'amasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwe bwonna, nga balabirirwa abakulu basatu, omu ku basatu abo nga ye Daniyeli. Kabaka Dariyo n'alagira abafuzi b'amasaza abo, banjulirenga abakulu abasatu omusolo, kabaka aleme kufiirwa. Daniyeli n'asukkuluma ku bakulu banne ababiri, ne ku b'amasaza, olw'omutima omulungi gwe yalina, era kabaka yali alowooza okumuwa obwa Katikkiro mu bwakabaka bwonna. Bakulu banne, n'ab'amasaza, ne bafuba okunoonya ekikyamu, mu ngeri Daniyeli gye yali alabiriramu obwakabaka, naye ne batakizuula, kubanga Daniyeli yali mwesigwa, nga talina kikyamu na kimu wadde eky'obukumpanya kyonna ky'akola. Awo abasajja abo ne bagamba nti: “Tetujja kuzuula kikyamu kya kuwawaabira Daniyeli, okuggyako nga tumuwawaabira bifa ku mateeka ga Lubaale we.” Awo abakulu abo n'ab'amasaza ne bajja eri kabaka nga bali wamu, ne bamugamba nti: “Kabaka Dariyo, wangaala! Abakulu bonsatule mu bwakabaka, n'abamyuka baabwe, n'ab'amasaza, n'abakungu, n'ab'amagombolola, bateesezza ne bassa kimu nti ggwe, ayi Ssaabasajja, oteekewo etteeka n'ekiragiro ekinywevu nti okumala ennaku amakumi asatu, omuntu anaabaako ky'asaba lubaale, oba ky'asaba omuntu omulala yenna atali ggwe, ayi Ssaabasajja, asuulibwe mu bunnya omuli empologoma. Kale kaakano, ayi Ssaabasajja, teekawo ekiragiro ekyo, oteeke omukono gwo ku kiwandiiko kyakyo kibe ekitayinza kukyusibwa, nga bwe kiri mu mateeka g'Abameedi n'Abaperusi agatajjulukuka.” Awo Kabaka Dariyo n'ateeka omukono gwe ku kiwandiiko ky'ekiragiro ekyo. Daniyeli bwe yamanya ng'ekiragiro kiteekeddwako omukono, n'addayo mu nnyumba ye. Amadirisa gaayo, mu kisenge kye ekya waggulu, gaggulanga nga goolekedde Yerusaalemu. N'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, era n'atendereza Katonda we, nga bwe yakolanga edda. Awo abasajja abo ne bajja nga bali wamu, ne basanga Daniyeli ng'asinza, era nga yeegayirira Katonda we, nga bwe yakolanga edda. Ne balyoka bagenda eri kabaka, ne boogera ku kiragiro kye yakola. Ne bagamba nti: “Tewateeka omukono gwo ku kiragiro ekigamba nti okumala ennaku amakumi asatu, buli anaabaako ky'asaba lubaale, oba omuntu omulala yenna atali ggwe, ayi Ssaabasajja, alisuulibwa mu bunnya omuli empologoma?” Kabaka n'addamu nti: “Ddala bwe kiri era ekiragiro ekyo kyakakasibwa ng'amateeka g'Abameedi n'Abaperusi bwe gali, agatajjulukuka.” Awo ne bagamba kabaka nti: “Daniyeli, omu ku baanyagibwa mu Buyudaaya, akunyooma ggwe, ayi Ssaabasajja, wamu n'ekiragiro kye wassaako omukono gwo, era aliko by'asaba Lubaale we emirundi esatu buli lunaku.” Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo, n'anakuwala nnyo, n'alumirwa Daniyeli, n'ayagala okumuwonya. N'amala olunaku lwonna ng'asala amagezi okumuwonya. Abasajja abo, era ne baddayo eri kabaka, ne bamugamba nti: “Ayi Ssaabasajja, kimanye nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewaabenga kiragiro wadde etteeka erimala okukakasibwa kabaka, eriyinza okukyusibwa.” Awo kabaka n'alagira ne baleeta Daniyeli, ne bamusuula mu bunnya omuli empologoma. Kabaka n'agamba Daniyeli nti: “Lubaale wo gw'osinza bulijjo, akuwonye.” Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'obunnya, kabaka n'aliteekako akabonero ke ak'envumbo, wamu n'akabonero k'abakungu be, waleme kubaawo kikyusibwa ku kibonerezo kya Daniyeli. Kabaka n'addayo mu lubiri lwe. Ekiro ekyo n'atalya ku mmere era n'atakkiriza kumuleetera bivuga eby'okumusanyusa, era n'ateebaka ku tulo. Kabaka yazuukuka ku makya nnyo, era obudde bwe bwali busaasaana, n'ayanguwako, n'agenda ku bunnya omuli empologoma. Bwe yatuuka ku bunnya, n'akoowoola Daniyeli mu ddoboozi ery'ennaku nti: “Ggwe Daniyeli, omuweereza wa Lubaale Nnannyinibulamu, Lubaale wo gw'osinza bulijjo yasobodde okukuwonya empologoma?” Daniyeli n'addamu nti: “Ayi Ssaabasajja, wangaala! Katonda wange yatumye malayika, we n'aziba emimwa gy'empologoma, ne zitankolako kabi, kubanga mu maaso ge siriiko kye nasobya, era ne mu maaso go, ayi Ssaabasajja, siriiko kabi ke nakola.” Kabaka n'asanyuka nnyo nnyini, n'alagira baggye Daniyeli mu bunnya. Ne bamuggyayo, ne balaba nga taliiko kabi n'akatono, kubanga yali yeesize Katonda we. Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja bali abaaloopa Daniyeli, ne babasuula mu bunnya omuli empologoma, bo, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe. Empologoma ne zibavumbagira nga tebannaba na kutuukira ddala wansi mu bunnya, ne zibabwebwena amagumba. Awo Kabaka Dariyo n'awandiikira abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna ab'omu nsi yonna nti: “Emirembe gyeyongere okuba nammwe. Nteeka etteeka nti mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange, abantu bonna batyenga, era bassengamu ekitiibwa Lubaale wa Daniyeli: kubanga Oyo ye Lubaale Nnannyinibulamu, anaafuganga, omunywevu emirembe gyonna. Obwakabaka bwe, bwe butalizikirizibwa, n'obuyinza bwe tebuliggwaawo. Awonya era n'alokola, akola ebyewuunyo n'ebyamagero mu ggulu era ne mu nsi. Awonyezza Daniyeli okuttibwa empologoma.” Bw'atyo Daniyeli oyo n'aba bulungi mu mulembe gwa Dariyo, n'ogwa Kuuro Omuperusi. Mu mwaka ogw'olubereberye nga Belusazzari ye kabaka w'e Babilooni, Daniyeli n'aloota ekirooto. Ng'ali mu kirooto ekyo, n'abaako kye yalabikirwa mu mutwe gwe, nga yeebase mu kitanda kye. N'awandiika ekirooto ekyo, ng'anyumya bye yalaba. Yanyumya nti: Mu kulabikirwa kwange ekiro, nalaba embuyaga eyali ekunta okuva ku njuyi zonna ennya, ng'esiikuula ennyanja ennene. Ebisolo bina ebinene ne bibbulukuka nga biva mu nnyanja eyo ennene, buli kimu nga tekifaanana kinnewaakyo. Ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, naye nga kirina ebiwaawaatiro ng'empungu. Bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byakyo ne bimaanyibwako. Ne wavaayo ekisolo ekyokubiri ekyali kifaanana ng'eddubu, ng'oluuyi lwakyo olumu lusituseemu. Kyali kikutte embiriizi ssatu mu kamwa kaakyo, nga kizirumizza mannyo. Ne bakigamba nti: “Situka olye ennyama nnyingi.” Bwe nali nga nkyatunula, ne wavaayo ekisolo ekirala. Kyali kifaanana ng'engo, naye nga ku mabega gaakyo, kyalina ebiwaawaatiro bina, ebyali bifaanana ng'ebiwaawaatiro by'ekinyonyi. Era kyalina emitwe ena. Ekisolo ekyo ne kiweebwa obuyinza okufuga. Ebyo bwe byaggwa, era mu kulabikirwa okw'ekiro, ne ndaba ekisolo ekyokuna eky'entiisa n'ekikangabwa, era eky'amaanyi amayitirivu. Kyalina amannyo manene ate nga ga kyuma, ge kyaliisanga ne kibwebwena bye kisangirizza. Ne kirinnyirira n'ebigere byakyo buli ekiba kifisseewo. Era obutafaanana bisolo birala byonna ebyakisooka, kyalina amayembe kkumi. Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ne ndaba ejjembe eddala ettono eryamera mu go, ne likuuliramu ddala amayembe amalala asatu, ku gali agaalisookawo. Ejjembe lino lyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwewaana. Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula. Ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ze nga njeru ng'ebyoya by'endiga. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga z'entebe eyo zaali muliro ogwaka. Omugga ogw'omuliro ne gukulukuta nga guva w'ali. Abantu enkumi n'enkumi baali awo okumuweereza, n'emitwalo n'emitwalo baayimirira mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa. Bwe nali nga nkyatunula, ne mpulira era ebigambo eby'okwewaana, ejjembe ettono bye lyayogera. Bwe nali nkyatunula, ekisolo ekyokuna ne kittibwa, omulambo gwakyo ne gusuulibwa mu muliro, ne gwokebwa, ne guzikirizibwa. N'obuyinza bw'ebisolo ebirala ne bubiggyibwako, wabula ne bikkirizibwa okusigala nga biramu okumala ekiseera ekigere. Mu kulabikirwa kwe nafuna ekiro, nalaba eyafaanana ng'Omuntu, n'ajja n'ebire, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, ne bamwanjula mu maaso ge. 1:7,13; 14:14 Eyafaanana ng'Omuntu, n'aweebwa obuyinza, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu ab'ebika byonna n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna bamuweerezenga. Obuyinza bwe bwa mirembe gyonna, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo. Nze Daniyeli ne nnakuwala mu mutima gwange, era ebyo bye nalaba mu kulabikirwa, ne bintiisa. Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde awo, ne mmubuuza ekituufu ekifa ku ebyo byonna. Awo n'antegeeza amakulu gaabyo. N'antegeeza amakulu g'ebyo byonna bye nalabikirwa nti: “Ebisolo ebyo ebinene ebina, be bakabaka bana abalibeerawo mu nsi. Kyokka abantu abatukuvu b'Oyo Atenkanika, baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna.” Awo ne njagala okumanya ekituufu ekifa ku kisolo ekyo ekyokuna, ekyali ekyawufu ku ebyo ebirala byonna, eky'entiisa ennyo, amannyo gaakyo nga ga kyuma, n'enjala zaakyo nga za kikomo, era ekyalya ne kibwebwena bye kyasangiriza, ne kirinnyirira n'ebigere byakyo buli ekyafikkawo. Era ne njagala okumanya ekituufu, ekifa ku mayembe ekkumi, agaali ku mutwe gwakyo, n'ejjembe eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu. Eryo lye jjembe eryalina amaaso n'akamwa akaayogera eby'okwewaana, era eryalabika okuba eggumu okusinga gannewaalyo. “Bwe nali nga nkyatunuulidde ejjembe eryo, ne lirwana n'abatukuvu ba Katonda, ne libawangula, okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala omusango, abantu ba Atenkanika ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu be abo ne baweebwa obwakabaka.” Awo n'aŋŋamba nti: “Ekisolo ekyokuna, buliba bwakabaka obwokuna ku nsi, obutafaanana bulala bwonna, era obulifuga ensi zonna, obulizisambirira, ne buzimenyaamenya. Ate amayembe ago ekkumi agaava mu bwakabaka buno, be bakabaka ekkumi abalisitukawo ne bafuga obwakabaka obwo. Walisitukawo omulala alibaddirira. Ye aliba wa njawulo ku abo, era aliggyawo bakabaka basatu. Alyogera bubi ku Oyo Atenkanika, era aliyigganya abatukuvu ba Atenkanika. Aligezaako okukyusa ennaku enkulu n'amateeka, era alifugira abatukuvu ba Katonda okutuusa ekiseera, n'ebiseera, n'ekitundu ky'ekiseera lwe biriggwaako. Naye walibaawo okutuula mu mbuga okusala omusango, obufuzi bwe ne bumuggyibwako, ne busaanyizibwawo. Olwo obwakabaka, n'obufuzi, n'ekitiibwa eky'obwakabaka bwonna ku nsi, biriweebwa abatukuvu ba Atenkanika. Obwakabaka bw'Atenkanika buliba bwa lubeerera, n'amatwale gonna galimuweereza, era galimugondera.” Ebigambo ebyo, awo we byakoma. Era nze Daniyeli, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ndabika. Naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange. Mu mwaka ogwokusatu nga Belusazzari ye kabaka, nze Daniyeli ne nfuna okulabikirwa, nga kuddirira kuli okwasooka. Mu kulabikirwa okwo, nagenda okulaba nga ndi mu Susani, ekibuga ekiriko ekigo ekigumu, era ekiri mu kitundu ky'e Elamu. Nali nnyimiridde ku Mugga Wulaayi. Bwe nayimusa amaaso, ne ndaba endiga ennume, ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Yalina amayembe abiri, nga mawanvu, naye erimu nga lisinga ku linnaalyo obuwanvu, era eryo erisingako obuwanvu, lye lyamera oluvannyuma. Ne ndaba endiga eyo ennume, ng'etomera ebugwanjuba, n'ebukiikakkono, n'ebukiikaddyo. Ne wataba nsolo eyinza kugirwanyisa, era ne wataba ayinza kuwonya ky'eyagala kutta. N'ekolanga nga bwe yayagalanga, ne yeeraga eryanyi. Bwe nali nga nkyafumiitiriza ku ekyo, embuzi ennume n'efubutuka ebuvanjuba, n'ejja misinde, nga n'ebigere byayo tebituuka ku ttaka, n'ebuna ensi yonna. Yalina ejjembe eritutunuseeyo wakati w'amaaso gaayo. N'erumba endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga, n'egifubutukira n'amaanyi mu busungu. Ne ngiraba ng'erumba endiga ennume. N'egisunguwalira nnyo, n'egitomera, n'emenya amayembe gaayo gombi. Embuzi n'ekuba endiga eyo wansi, n'egirinnyirira, ne wataba ayinza kutaasa ndiga. Olwo embuzi ennume ne yeeyongera nnyo okweraga eryanyi, naye eryanyi bwe lyali likyagiwaga, ejjembe lyayo eddene ne likutukako. Mu kifo kyalyo, ne wamerawo amayembe ana agatutunuseeyo, nga gatunuulira enjuyi ennya ez'ensi. Mu limu ku mayembe ago, ne muvaamu ejjembe ettono, eryafuuka ery'obuyinza ennyo, ne likakaatika obuyinza bwalyo ebukiikaddyo, n'ebuvanjuba, ne ku Nsi Eyeekitiibwa. Ne lifuuka lya maanyi, ne lituuka n'okulumba eggye ery'omu ggulu. N'eby'omu ggye eryo ebimu, era n'emmunyeenye ezimu, ne libisuula wansi, ne libirinnyirira. Ne lyetumbula lyenkanenkane n'Omukulu w'Eggye, ne liggyawo ekitambiro ekya buli lunaku ekyaweebwanga Omukulu w'Eggye, ne lyonoona Ekifo Ekitukuvu. Ne wateekebwawo engeri y'okusinza ewakanya okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. Ejjembe ne liggyawo eddiini ey'amazima, ne lituukiriza bye lyayagala okukola. Awo ne mpulira omutuukirivu omu ng'ayogera. Omutuukirivu omulala n'agamba oli eyayogera, n'amubuuza nti: “Ebyo ebirabiddwa mu kulabikirwa, biribaawo kutuusa ddi? Ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, kirimala kiseera ki nga tekinnazzibwawo? Ekibi ekyenyinyalwa kiribeerawo kutuusa ddi? Ensinza entuufu, n'Ekifo Ekitukuvu, biririnnyirirwa kutuusa ddi?” N'amuddamu nti: “Birimala ebiseera akawungeezi n'enkya, enkumi bbiri mu ebikumi bisatu, Ekifo Ekitukuvu ne kiryoka kirongoosebwa.” Awo nze Daniyeli, bwe namala okulaba ebyandagibwa mu kulabikirwa, ne njagala mbitegeere. Nagenda okukebuka bwe nti, nga ndaba ekyandabikira ng'omuntu. Ne mpulira eddoboozi ly'omuntu, nga liva wakati w'Omugga Wulaayi, nga likoowoola nti: “Gabulyeli, tegeeza omusajja oyo amakulu g'ebyo by'alabye.” N'ajja okumpi ne we nali nnyimiridde. Bwe yajja, ne ntya, ne ngwa wansi nga nneevuunise. Ye n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tegeera nga by'olabye bifa ku kiseera kya nkomerero.” Awo bwe yali ayogera nange, ne ngwa nga nneevuunise, nga sikyamanyi biri na ku nsi. Kyokka n'ankwatako, n'annyimusa. N'agamba nti: “Kale, nja kukutegeeza ebiribaawo ng'obusungu bwa Katonda bugenda okuggwaako. By'olabye, bifa ku kiseera ekyategekebwa okuba eky'enkomerero. “Endiga ennume ebadde n'amayembe abiri, gy'olabye, bwe bwakabaka bwa Mediya ne Perusiya. Embuzi ennume ey'ekikuzzi, bwe bwakabaka bwa Buyonaani, ejjembe eddene eriri wakati w'amaaso gaayo, ye kabaka omubereberye owa Buyonaani. Amayembe ana agaameze mu kifo ky'eryo eryamenyese, bwe bwakabaka buna obuligabanyizibwa mu bwakabaka bwe, naye bwo tebuliba bwa maanyi ng'ag'obwakabaka obubwe. “Enkomerero y'obwakabaka obwo obuna bw'eriba eneetera okutuuka, era ng'abantu bayitirizza okukola ebibi, walisibukawo kabaka atunuza obukambwe, era omukujjukujju mu kukola eby'enkwe. Aliba n'obuyinza, naye tebuliba bwa maanyi ng'obwa kabaka eyasooka bali abana. Alireeta okuzikiriza okw'entiisa, alituukiriza by'ayagala okukola, era alizikiriza ab'amaanyi, n'abantu Katonda be yeerondera okuba ababe. Olw'obukujjukujju bwe, alikozesa enkwe n'atuukiriza by'ayagala okukola. Alyekulumbaza, era alizikiriza bangi, nga balowooza nti bali mirembe. Era alisituka okulwanyisa Kabaka afuga bakabaka bonna. Wabula alizikirizibwa nga tewali amukutteko. Era okulabikirwa okwogeddwa ku kawungeezi n'enkya, kwa mazima. Naye ggwe, ebiri mu kulabikirwa okwo, bikuume nga bya kyama, kubanga waliyitawo ekiseera kiwanvu, ne biryoka bituukirira.” Olwo nze Daniyeli ne nzigwamu amaanyi, ne ndwala okumala ennaku ntonotono, n'oluvannyuma ne nva ku ndiri, ne nkola emirimu gya kabaka. Kyokka neewuunya bye nalaba mu kulabikirwa, era ne sibitegeera. Gwali mwaka ogusooka nga Dariyo, mutabani wa Ahaswero, ye kabaka w'Abakaludaaya. Mu mwaka ogwo ogusooka nga Dariyo ye kabaka, nze Daniyeli nali neetegereza ebitabo, ne ndaba ng'emyaka giriba nsanvu, ekibuga Yerusaalemu gye kirimala nga matongo, nga Mukama bwe yamanyisa Yeremiya Omulanzi. Awo ne nkyukira eri Mukama Katonda, ne mmusaba nga mmwegayirira, nga nsiiba, nga nnyambala ebikutiya, era nga ntuula mu vvu. Ne neegayirira Mukama Katonda wange, ne njatula nti: “Ayi Mukama Katonda, Ggwe Omukulu era ow'entiisa, Ggwe akuuma endagaano gy'oba okoze, era n'okwatirwa ekisa abo abakwagala ne bakola by'olagira, twasobya, twayonoona, era twakola ebibi, twajeema, era twava ku by'otulagira, ne ku by'otukuutira. Tetwawuliriza baweereza bo abalanzi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, abakulembeze baffe, ne bajjajjaffe, n'eri eggwanga lyonna. Ggwe, ayi Mukama, bulijjo okola bituufu, naye ffe bulijjo twereetera okuswala, nga kwe tulimu kaakano. Ekyo bwe kiri ku ffe ffenna: abantu abali mu Buyudaaya, n'abatuuze b'omu Yerusaalemu, n'Abayisirayeli bonna abali okumpi, n'abo abali ewala mu nsi zonna gye wabasaasaanya olw'obutaba beesigwa gy'oli. Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n'abakulembeze baffe abalala, ne bajjajjaffe, tuswadde, kubanga twakola ebibi ne tukunyiiza. Ayi Mukama Katonda waffe, Ggwe oli wa kisa era osonyiwa, wadde nga ffe twakujeemera. Tetwawuliriza by'otugamba, ayi Mukama Katonda waffe, bwe watugamba okukwatanga amateeka go ge watuwa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi. Eggwanga lyonna erya Yisirayeli lyamenya amateeka go, ne liwaba, ne ligaana okuwuliriza by'ogamba. Twayonoona ne tukunyiiza, kyewava otutuusaako, ebikolimo bye weerayirira okututuusaako, ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuweereza wo, ayi Katonda, n'otuukiriza bye wagamba okukola ku ffe, ne ku bafuzi baffe. N'obonereza Yerusaalemu, okusinga ebibuga ebirala byonna ku nsi, ne tuweebwa ebibonerezo byonna ebyogerwako mu mateeka ga Musa. Naye ne kaakano, ayi Mukama Katonda waffe, tetunnafaayo kukusanyusa nga tuva mu bibi byaffe, ne tussaayo omwoyo ku mazima go. Kyewava otunuulira ebibi byaffe n'otubonereza, ayi Mukama Katonda waffe, kubanga bulijjo okola bituufu, naye ffe tetwawuliriza ky'otugamba. “Ayi Mukama Katonda waffe, Ggwe eyalaga obuyinza bwo, bwe waggya abantu bo mu nsi y'e Misiri, era nga ne leero obuyinza bwo bukyajjukirwa, twayonoona, twakola ebitasaana. Nga bw'oli ow'ekisa ekingi, nkwegayiridde, oleme kwongera kusunguwalira na kukambuwalira Yerusaalemu, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw'okwonoona kwaffe, n'olw'ebibi bya bajjajjaffe, abantu bonna mu nsi ezitwetoolodde, banyooma Yerusaalemu wamu n'abantu bo. Kale kaakano, ayi Katonda waffe, wulira okusaba kwange, n'okwegayirira kwange nze omuweereza wo, kwatirwa ekisa Essinzizo lyo erirekeddwa awo ettayo, olage ekitiibwa kyo. Ayi Katonda wange, tega okutu kwo owulire, zibula amaaso go olabe ebyaffe, ebyalekebwa awo ettayo, n'ekibuga ekyo ekiyitibwa ekikyo. Tukwegayiridde si lwa kuba nga twakola ebituufu, naye kubanga Ggwe oli wa kisa. Ayi Mukama, wulira! Ayi Mukama, sonyiwa! Ayi Mukama, ssaayo omwoyo, okolerewo! Tolwa, olage ekitiibwa kyo. Ekibuga kino kikyo, era n'abantu bano babo.” Ne nnyongera okwatula ebibi byange, n'eby'abantu bange Abayisirayeli, n'okusaba era n'okwegayirira Mukama, Katonda wange, nga mmusaba azzeewo ekitiibwa ky'Olusozi lwe Olutukuvu. Bwe nali nga nkyasaba, Gabulyeli gwe nalaba mu kulabikirwa okwasooka, n'abuusibwa mangu n'antuukako, mu kiseera eky'okuweerayo ekitambiro eky'akawungeezi. N'ayogera nange, n'annyinyonnyola bw'ati nti: “Ggwe Daniyeli, kaakano nzize okukutangaaza, otegeere. Bwe wali waakatandika okwegayirira, n'oyanukulwa. Kaakano nzize okukumanyisa kye wayanukulwa, kubanga oli mwagalwa nnyo. Kale ssaayo omwoyo nga nkunnyonnyola, otegeere amakulu g'ebyo bye walaba mu kulabikirwa. “Wiiki nsanvu, lye bbanga eriteereddwawo abantu bo n'ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n'okumalawo okukola ebibi, okusaba ekisonyiwo, n'okuteekawo obwenkanya obw'olubeerera. Olwo ebyalagibwa mu kulabikirwa, n'ebyalangibwa, biryoke bituukirire, n'Ekifo Ekitukuvu ennyo kiwongebwe, nga kifukibwako omuzigo. Kale manya era otegeere ng'okuva ku kiseera ekiragiro lwe kiriweebwa okuzimba Yerusaalemu obuggya, okutuuka ku kujja kw'oyo omulangira alifukibwako omuzigo, waliyitawo wiiki musanvu, ne wiiki nkaaga mu bbiri. Yerusaalemu kirizimbibwa buggya, n'enguudo zaakyo era n'ebigo byakyo ebigumu, naye ekyo kiriba kiseera kya kubonaabona. Wiiki enkaaga mu ebbiri bwe ziriggwaako, Eyafukibwako Omuzigo n'alyoka attibwa nga talina musango. Ekibuga n'Ekifo Ekitukuvu, birizikirizibwa eggye ly'omufuzi ow'amaanyi, eririjja ne lirumba. Enkomerero y'omufuzi oyo, erijja ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gujja, era walibaawo okulwanagana, okutuusiza ddala ku nkomerero. Okuzikiriza kwalagirwa. Omufuzi oyo alikola n'abantu bangi endagaano ennywevu okumala wiiki emu. Mu makkati ga wiiki eyo, aliwera ebitambiro n'ebiweebwayo. Ne ku ntikko y'Ekifo Ekitukuvu, omuzikiriza alissaako ebyenyinyalwa, okutuusa enkomerero eyamutegekerwa lw'erituuka.” Mu mwaka ogwokusatu nga Kuuro ye kabaka wa Perusiya, obubaka ne bubikkulirwa Daniyeli, eyatuumibwa erinnya Belutesazzari. Obubaka obwo bwali bwa mazima, era nga bufa ku lutalo olw'amaanyi. N'abutegeera, nga bumunnyonnyolerwa mu kulabikirwa. Mu nnaku ezo, nze Daniyeli namala wiiki ssatu nga nkungubaga. Saalyanga mmere nnungi, wadde ennyama. Saanywanga mwenge, era seesiiganga ku kazigo, okumalira ddala wiiki ezo essatu ennamba. Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogusooka mu mwaka, nali nnyimiridde ku mabbali g'omugga omunene Tigiriisi. Bwe nayimusa amaaso, ne ndaba omusajja ayambadde engoye enjeru, nga yeesibye mu kiwato omusipi ogwa zaabu omulungi ennyo. Omubiri gwe gwali gutemagana ng'ejjinja ery'omuwendo, obwenyi bwe bwali ng'okumyansa kw'eggulu, n'amaaso ge nga gaaka ng'omuliro. Emikono gye n'amagulu ge, byali ng'ekikomo ekizigule. Nga bw'ayogera, eddoboozi lye liri ng'ery'abantu abangi. Nze Daniyeli nzekka, nze nalaba omuntu oyo mu kulabikirwa okwo. Abantu abaali nange, tebaliiko kye baalaba, wabula baatya nnyo ne badduka, ne beekweka. Ne nsigalawo bwomu, ne ntunuulira bino ebyewuunyisa bye nalaba mu kulabikirwa. Mu nze ne mutasigalamu maanyi n'akatono. Entunula yange n'ebijjira ddala, ng'omuntu andaba tayinza kuntegeera. Ne nnafuyira ddala. Kyokka nawulira eddoboozi lye ng'ayogera. Bwe nawulira eddoboozi lye ng'ayogera, ne nzigweramu ddala akategeera, ne ngalamira ku ttaka nga nneevuunise. Awo omukono ne gunkwatako, nga nzenna nkankana, ne gunfukamiza wansi, nga nsimbye ebibatu byange ku ttaka. N'aŋŋamba nti: “Daniyeli, ggwe omuntu ayagalwa ennyo, ssaayo omwoyo ku bye nkugamba, era situka oyimirire. Ntumiddwa gy'oli.” Bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nnyimirira nga nkankana. Awo n'aŋŋamba nti: “Daniyeli, leka kutya, kubanga okuva ku lunaku lwe watandikirako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, ne weetoowaza mu maaso g'Omutonzi wo, ensonga zo zaawulirwa, era ze zindeese. Kyokka omulangira ow'obwakabaka bwa Perusiya, amaze ennaku amakumi abiri mu lumu ng'anziyizza. Wabula Mikayeli, omu ku balangira abakulu, n'ajja n'annyamba. Ne mmulekayo ng'ali wamu ne bakabaka ab'e Perusiya. Kaakano nzize okukutegeeza ebiriba ku bantu bo mu nnaku ez'enkomerero, kubanga bye walaba mu kulabikirwa bya kiseera ekikyali ewala.” Bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne ntunula ku ttaka, ne nnemwa okwogera. Oyo afaanana ng'omuntu n'akoona ku mimwa gyange, ne ntandika okwogera. Ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso nti: “Mukama wange, okulabikirwa kuno kundeetedde okunakuwala kungi. Sisigazizzaamu twanyi n'akamu. Kale nze omuddu wo, nnaayogera ntya naawe mukama wange? Sikyalimu maanyi, era n'omukka gwe nzisa, gumpweddemu.” Eyali afaanana ng'omuntu, n'addamu okunkoonako, n'anzizaamu ku maanyi. N'agamba nti: “Ggwe, omuntu ayagalwa ennyo, totya. Emirembe gibe naawe. Ddamu amaanyi, ogume.” Bwe yayogera nange bw'atyo, ne neeyongera okuddamu amaanyi, ne ŋŋamba nti: “Mukama wange, yogera, kubanga onzizizzaamu amaanyi.” N'agamba nti: “Omanyi kyenvudde nzija gy'oli? Kaakano, ŋŋenda kuddayo okulwanyisa omulangira owa Perusiya. Bwe nnaavawo, olwo omulangira wa Buyonaani anajja. Naye nja kukubuulira ebyawandiikibwa mu kitabo ky'eby'amazima. Tewali mulala ankwatirako okulwanyisa abo, wabula Mikayeli omulangira wammwe.” “Kale nze, mu mwaka ogusooka nga Dariyo Omumeedi ye kabaka, nayimirira okumugumya n'okumuzzaamu amaanyi. Era kaakano ka nkutegeeze amazima: walisitukawo bakabaka abalala basatu mu Perusiya, ate owookuna alibaddirira, aliba mugagga okusinga abo bonna, era bw'alimala okufuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alipikiriza bonna okulwanyisa obwakabaka bwa Buyonaani. “Olwo walisitukawo kabaka ow'amaanyi alifuga n'obuyinza obungi, era alikola nga bw'ayagala. Kyokka bw'alimala okwenyweza mu buyinza, obwakabaka bwe bulimenyekawo, ne bugabanyizibwamu ebitundu bina, eky'ebuvanjuba n'eky'ebugwanjuba, eky'ebukiikakkono n'eky'ebukiikaddyo. Naye tebuliweebwa ba zzadde lye, wadde okufugibwa n'obuyinza nga ye bwe yalina, kubanga obwakabaka bwe bulisalwasalwamu, ne butwalibwa abalala abatali abo ab'ezzadde lye. “Kabaka ow'ebukiikaddyo aliba wa maanyi, wabula omu ku bakungu be alifuuka wa maanyi okumusinga, n'afuga obwakabaka obugaziyiziddwa okusinga obubwe. Bwe waliyitawo emyaka, balissaawo enkolagana eyaawamu. Olw'okwagala okunyweza enkolagana eyo, muwala wa kabaka w'ebukiikaddyo aligenda n'afumbirwa kabaka w'ebukiikakkono, kyokka obufumbo bwabwe tebuliwangaala. Omumbejja oyo, alittibwa, awamu n'abaweereza be bonna abaliba bagenze naye, ne bba, era ne mutabani waabwe. Mu nnaku ezo, omu ku b'oluganda lw'omumbejja oyo, alifuuka kabaka ng'asikira kitaawe. Alirumba eggye lya kabaka w'ebukiikakkono, n'ayingira ekigo kya kabaka oyo ekigumu, era alibalwanyisa n'abawangula. Alinyaga balubaale baabwe abakoleddwa mu bintu ebisaanuuse, era alinyaga n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, n'addayo nabyo e Misiri. Alimala emyaka nga tazzeemu kulumba kabaka w'ebukiikakkono. Nga wayiseewo emyaka egyo, kabaka w'ebukiikakkono alirumba amatwale ga kabaka ow'ebukiikaddyo, wabula aliwalirizibwa okuddayo mu nsi ye. Batabani be balyeteekerateekera olutalo, ne bakuŋŋaanya eggye eddene ennyo, eririjja ne lyanjaala, ne likuba abalabe, ne libayitamu, ne lituukira ddala ku kigo kyabwe ekigumu. Awo kabaka w'ebukiikaddyo alisunguwala nnyo, n'avaayo n'alwanyisa kabaka w'ebukiikakkono, n'awangula eggye lya kabaka oyo eryali eddene ennyo. Alyegulumiza olw'okuwangula, era alitta abantu bangi nnyo, wabula obuwanguzi bwe tebulirwawo. “Kabaka w'ebukiikakkono aliddayo ewuwe, n'akuŋŋaanya eggye eddene okusinga eryasooka. Ekiseera kirituuka, nga wayiseewo emyaka, n'akomawo ng'amaliridde, ng'alina eggye ddene n'ebyokulwanyisa bingi. Era mu biseera ebyo, walibaawo bangi abalisituka okulwanyisa kabaka w'ebukiikaddyo. Era abantu abamu abakambwe ab'omu ggwanga lyo, ggwe Daniyeli, balijeema okutuukiriza ebyalabibwa mu kulabikirwa, naye baliremwa. Awo kabaka w'ebukiikakkono alijja n'azingiza ekibuga ekiriko ebigo ebigumu, n'akiwamba. Amagye g'ebukiikaddyo tegalisobola kumulwanyisa, newaakubadde abaserikale abasingira ddala obuzira mu go, tebaliba na maanyi gamala okumusobola. Kabaka alumbye, alikola nga bw'ayagala. Tewaliba ayinza kumuziyiza. Era aliyimirira mu Nsi Eyeekitiibwa, yonna n'ebeera mu buyinza bwe, ng'ayinza n'okugizikiriza. “Kabaka w'ebukiikakkono, alitegeka okweyambisa amaanyi gonna ag'obwakabaka bwe okujja okulumba. Alikola endagaano ey'emirembe ne kabaka oyo ow'ebukiikaddyo, era olw'okwagala okumusekeeterera, alimuwa n'omwana ow'obuwala okumuwasa. Kyokka n'ekyo tekirikola, era tekirimuyamba. Ebyo bwe biriggwa, alikyuka n'alumba ebizinga, era aliwangula bingi. Kyokka omuduumizi w'amagye amagwira alikomya ejjoogo lye. Ddala alimujooga nga naye bwe yajooganga abalala. Kabaka oyo aliddayo mu bigo ebigumu eby'omu nsi ye, kyokka aliwangulwa n'ataddayo kulabikako. “Alisikirwa kabaka omulala. Kabaka oyo omulala, aliteekawo omusolooza w'omusolo alitulugunya abantu mu kubaggyako omusolo, okukuŋŋaanya obugagga mu bwakabaka bwe. Kyokka mu bbanga ttono, kabaka oyo alittibwa awatali luyombo wadde olutalo.” Oyo afaanana ng'omuntu, n'ayongera okuŋŋamba nti: “Mu kifo kya kabaka oyo, waliddawo omuntu atasaanidde kuba kabaka. Oyo alijja nga tebategedde, n'afuuka kabaka, ng'ayita mu nkwe. Bonna abamuwakanya, wadde Ssaabakabona akulira endagaano ya Mukama, balyerebwawo, ne bazikirizibwa. Alirimbalimba ab'amawanga amalala ng'akola nabo endagaano, n'afuuka wa maanyi, wadde ng'abantu b'alina batono. Ebitundu ebisinga obugagga, alibirumba nga tebitegedde, era alikola ebyo bajjajjaabe bonna bye bataakola. Aligabira abawagizi be omunyago ogw'abantu n'ogw'ebintu gw'anyaze mu lutalo. Alikola entegeka okulumba ebigo ebigumu, naye ekyo kirimala akaseera katono. “Alimalirira n'obuvumu, n'akuŋŋaanya eggye ddene, okulumba kabaka w'ebukiikaddyo. Ne kabaka w'ebukiikaddyo, alitegeka eggye eddene era ery'amaanyi okulwana olutalo, kyokka taliwangula, kubanga balimusalira enkwe. Era abo bennyini abalya ku mmere ye, be balimuzikiriza. Abaserikale be bangi balittibwa, eggye lye ne lisaasaana. Emitima gya bakabaka abo bombi girirowooza kukolaganako bya bulabe, era buli omu alirimba munne nga batudde ku mmeeza emu. Naye kye baagala tekirituukirira, kubanga ekiseera ekyateekebwawo okuba eky'enkomerero, kiriba tekinnatuuka. Kabaka w'ebukiikakkono, aliddayo mu nsi ye n'ebyobugagga bingi by'anyaze. Omutima gwe guliba gukyaye eddiini y'abantu ba Katonda. Bw'alimala okukola eby'okugiyigganya, n'alyoka addayo mu nsi ye. “Aliddayo mu kiseera Katonda kye yategeka, n'azinda ensi y'ebukiikaddyo. Naye ku mulundi guno, tekiriba nga bwe kyali mu kusooka, kubanga emmeeri za Kittimu zirijja okumulumba, n'atya, n'addayo emabega, n'amalira obusungu bwe ku ddiini y'abantu ba Katonda, n'agiyigganya, n'adda ku kussanga omwoyo ku abo abaleseeyo eddiini eyo. Aliweereza ab'amagye, ne bajaajaamya Essinzizo, n'ekigo kyalyo ekigumu. Baliggyawo okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne bateekawo eky'omuzizo ekyenyinyalwa. Alikozesa ebigambo ebiwaanawaana, okukyamiza ddala abo abaleseeyo eddiini yaabwe, naye abo abamanyi Katonda waabwe, baliguma ne beerwanako. Abantu abategeevu abali mu ggwanga, baliyigiriza bangi newaakubadde balimala ekiseera nga battibwa mu ntalo, oba nga bafiira mu kwokebwa omuliro, n'abalala nga banyagibwa ne basibibwa. Ng'okuttibwa kukyagenda mu maaso, abantu ba Katonda abeesigwa balifunayo ku buyambi obutonotono, wadde ng'abalibeegattako bangi baliba ba nkwe. Abamu ku bantu abo abategeevu, balittibwa, naye ekirivaamu, abantu balirongoosebwa, ne batukuzibwa, ne baggyibwako buli bbala, okutuusa ekiseera eky'enkomerero, Katonda kye yategeka, lwe kirituuka. “Kabaka oyo ow'ebukiikakkono, alikola nga bw'ayagala, era alyegulumiza. Alyekulumbaza nti asinga balubaale bonna, era alyogera ebitayogerekeka, ebinyooma Katonda afuga balubaale bonna. Alisobola okwongera okukola bw'atyo, okutuusa ekiseera eky'okumubonereza lwe kirituuka, kubanga ekyo Katonda kye yategeka kijja kutuukirira. Kabaka oyo talissa kitiibwa mu balubaale ba bajjajjaabe, wadde mu oyo, abakazi gwe baagala. Talibaako lubaale n'omu gw'assaamu kitiibwa, kubanga alirowooza nti ye ye abasinga bonna. Mu kifo ky'okussa ekitiibwa mu balubaale abo, alikissa mu lubaale w'ebigo ebigumu, bajjajjaabe gwe bataamanyaako. Alimutonera zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, era n'ebintu ebirala ebisanyusa. Alikozesa abantu abasinza lubaale oyo omugwira, okukuuma ebigo bye ebigumu. Bonna abakkiriza lubaale oyo, alibongerako ekitiibwa, n'abafuula bafuzi ba bangi, era alibagabanyiza ensi okubaweera. “Ekiseera eky'oluvannyuma ekya kabaka w'ebukiikakkono, bwe kiriba kinaatera okutuuka, kabaka w'ebukiikaddyo alimulumba. Ne kabaka oyo ow'ebukiikakkono, alivaayo n'amulwanyisa n'amaanyi ge gonna, ng'akozesa amagaali, n'abeebagadde embalaasi, era n'emmeeri ennyingi. Alirumba ensi nnyingi, n'ayanjaala mu zo, n'aziyitamu ng'amazzi ag'omujjuzo, n'agenda. Alirumba n'Ensi Eyeekitiibwa, era alitta bangi. Naye ensi zino zirimuwona: Edomu, ne Mowaabu, n'ekitundu ekisinga obunene ekya Ammoni. Bw'alirumba ensi ezo zonna, ne Misiri teritalizibwa. Aliba n'obuyinza ku zaabu ne ffeeza omutereke, ne ku byobugagga ebirala ebya Misiri. Aliwangula Abalibiya, n'Abatiyopiya. Naye amawulire agaliva ebuvanjuba n'ebukiikakkono galimutiisa, era alivaayo n'obusungu bungi, okuzikiriza n'okusaanyizaawo ddala abantu bangi. Alisimba weema z'olubiri lwe wakati w'ennyanja zombi, ku Lusozi Olwekitiibwa olutukuvu. Kyokka alituuka ku nkomerero ye, era tewaliba amuyamba.” Malayika n'ayongera okugamba nti: “Mu nnaku ezo, Mikayeli malayika omukulu omukuumi w'abantu bo, alirabika. Era walibaawo ekiseera eky'okubonaabona okutabangawo okuva amawanga lwe gaabaawo. Mu nnaku ezo, abantu bo bonna abaliba bawandiikiddwa mu kitabo, balitalizibwa. Era bangi ku abo abaafa balizuukira, abamu okwesiima mu bulamu obutaggwaawo, n'abamu okubonaabona mu nsonyi n'okunyoomebwa okw'olubeerera. Abo abagezi balitangalijja ng'okutangalijja okw'omu bbanga, era abo abayigiriza abangi okukola ebituufu, balyakaayakana ng'emmunyeenye emirembe gyonna. Naye ggwe Daniyeli, kuuma obubaka buno nga bwa kyama, era ekitabo okisibeko envumbo, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero. Bangi balidduka nga badda eno n'eri, era okumanya kulyeyongera.” Awo nze Daniyeli, ne ntunula, ne ndaba abantu abalala babiri, nga bayimiridde ku lubalama lw'omugga, omu emitala w'eno, n'omulala emitala w'eri. Omu ku bo, n'abuuza omusajja eyali ayambadde engoye enjeru, era ng'ayimiridde ku mazzi g'omugga nti: “Ebyewuunyisa ebyo, birimala bbanga ki nga tebinnaggwaawo?” Awo omusajja oyo ayambadde ebyeru, era ayimiridde ku mazzi g'omugga, n'agolola waggulu emikono gye gyombi, n'alayira Oyo Omulamu emirembe gyonna. Ne mpulira ng'agamba nti: “Giriba emyaka esatu n'ekitundu. Bwe balimala okumalamu abantu ba Katonda amaanyi, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo.” Ne mpulira by'ayogedde, naye ne sibitegeera. Ne ndyoka mmubuuza nti: “Ayi mukama wange, kiki ekiriva mu ebyo byonna?” Ye n'aŋŋamba nti: “Daniyeli, kwata makubo go ogende, kubanga ebigambo ebyo, bya kukuumibwa nga bya kyama, era nga bisirikiddwa, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero. Abantu bangi balinaazibwa, ne batukuzibwa, ne bazzibwa buggya, naye bo ababi balyeyongera kukola bibi, era ku bo tekuliba ategeera. Naye abalina amagezi, balitegeera. Okuva ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku lwe kiriggyibwawo, ne wateekebwawo eky'omuzizo ekyenyinyalwa, walibaawo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu kyenda. Wa mukisa oyo alindirira, okutuusa ennaku olukumi mu ebikumi ebisatu mu asatu mu ettaano, lwe ziriggwaako. “Naye ggwe beera mwesigwa, okutuusa ku nkomerero. Okufa olifa, naye olizuukira, n'ofuna empeera yo, mu kiseera eky'oluvannyuma.” Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Hoseya, mutabani wa Beeri, mu mirembe gya Wuzziya, n'egya Yotamu, n'egya Ahazi ne Heezeekiya, bassekabaka ba Buyudaaya, ne mu mirembe gya Yerobowaamu, mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Yisirayeli. 2 Byom 26:1–27:8; 28:1–32:33 Mukama bwe yatandika okwogera n'Abayisirayeli ng'ayita mu Hoseya, yagamba Hoseya nti: “Genda owase omukazi atali mwesigwa, omuzaalemu abaana, kubanga abantu bange banvuddeko, nze Mukama, tebakyali beesigwa.” Awo Hoseya n'agenda, n'awasa omukazi ayitibwa Gomeri, muwala wa Dibulayimu. Gomeri n'aba olubuto, n'azaalira Hoseya omwana ow'obulenzi. Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya Yezireeli, kubanga ebulayo ekiseera kitono, mbonereze ab'ennyumba ya Yeehu olw'abantu Yeehu be yattira e Yezireeli. Era ŋŋenda kukomya obwakabaka bwa Yisirayeli. Era mu kiseera ekyo, ndisaanyaawo ebyokulwanyisa bya Yisirayeli mu kiwonvu kya Yezireeli.” Gomeri era n'aba olubuto, n'azaala omwana wa buwala, Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya ‘Takwatirwakisa’, kubanga Abayisirayeli sikyabakwatirwa kisa, wadde okubasonyiwa. Naye ndikwatirwa ekisa ab'omu Buyudaaya. Nze Mukama Katonda waabwe, ndibawonya akabi, naye nga tewali kukozesa mutego gwa busaale na kitala, wadde embalaasi n'abazeebagadde; tewaliba lutalo.” Gomeri bwe yamala okuggya Takwatirwakisa ku mabeere, era n'aba olubuto nate. N'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya ‘Sibantubange’, kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siri Katonda wammwe.” Abayisirayeli baliba bangi ng'omusenyu ogw'ennyanja, ogutayinza kupimibwa, wadde okubalibwa. Kaakano Katonda abagamba nti: “Temuli bantu bange.” Naye olunaku lulituuka n'abagamba nti: “Muli baana ba Katonda Nnannyinibulamu.” Abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli balyegatta wamu, era balyerondera omukulembeze omu. Baliddamu okukulaakulana n'okuba obulungi mu nsi yaabwe, kubanga olunaku lwa Yezireeli luliba lukulu. Kale mugambe baganda bammwe nti: “Bantu bange”, ne bannyinammwe nti: “Mbakwatirwa ekisa.” Mwegayirire nnyammwe, wadde nga takyali mukazi wange, era nga nange sikyali bba, mumwegayirire alekeyo obwenzi bwe n'obukaba bwe, nneme okumwambula, okumuleka obwereere nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalirwako, ne mmufuula ng'ensi enkalu ey'eddungu, ne mmussa ennyonta. Abaana be siribakwatirwa kisa, kubanga nnyaabwe mwenzi. Nnyaabwe oyo omwenzi eyawemuka, yagamba nti: “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n'amazzi, engoye ez'ebyoya by'endiga n'ez'enjaaye, omuzigo n'ebyokunywa.” Kale ekkubo lye, ndiriteekamu amaggwa ne ndiziba, era ndikola olukomera abulwe w'ayita. Aligoberera baganzi be, naye talibatuukako. Alibanoonya, naye talibazuula. Olwo aligamba nti: “Nja kuddayo ewa baze eyasooka, kubanga luli nali bulungi okusinga bwe ndi kaakano.” Teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n'omwenge n'omuzigo, era nga nze namuwanga ffeeza ne zaabu bye yawangayo mu kusinza Baali. Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange n'omwenge mu kiseera eky'amakungula, era ne mmuggyako n'engoye ez'ebyoya by'endiga, n'ez'enjaaye ze namuwa okwambala. Ndimwambula n'asigala bwereere mu maaso ga baganzi be, era tewaliba amuggya mu buyinza bwange kumuwonya. Ndikomya ennaku ze enkulu n'embaga ze eza buli mwezi n'eza buli mwaka, n'okukuza Sabbaato n'enkuŋŋaana ze zonna ez'eddiini. Ndizikiriza emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti: “Gino ye mpeera yange, baganzi bange gye bampadde.” Ndigizisa, era ensolo ez'omu ttale zirigirya. Ndimubonereza olw'ekiseera kye yamala ng'anneerabidde, ng'ayotereza Baali obubaane era nga yeewoomya n'empeta ez'omu matu n'ebyobuyonjo, n'agenda ne baganzi be. Mukama ye ayogedde. Kale ndimusendasenda ne mmutwala mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa. Era nga tuli eyo, ndimuddiza ennimiro ze ez'emizabbibu. Ekiwonvu eky'Emitawaana ndikifuula oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu okumpulira nga bwe yakolanga mu nnaku ez'omu buvubuka bwe, mu kiseera kye yaviiramu e Misiri. Mu biro ebyo alimpita bba, nga takyampita mukama we, kubanga ndiba sikyamukkiriza kwogera wadde okwatula erinnya Baali. Mu nnaku ezo ndikola endagaano n'ensolo ez'omu ttale n'ebinyonyi era n'ebyewalula, biremenga kukola kabi ku bantu bange. Era ndiggyawo omutego gw'obusaale n'ekitala n'ebyokulwanyisa ebirala byonna mu nsi, ne mbaleka mubeere mirembe. Ndikuwasa ggwe Yisirayeli, n'oba mukazi wange ennaku zonna. Ndikulokola ne mba mwenkanya gy'oli. Ndikulaga ekisa ne nkusaasira. Ndiba mwesigwa gy'oli era olimmanya nga nze Mukama. Mu biro ebyo nditonnyesa enkuba ku nsi, era n'ensi eribaza eŋŋaano n'emizabbibu n'emizayiti. Ndyanukula okusaba kwa Yezireeli. Nditeeka Abayisirayeli mu nsi eno, era ndisaasira abo abaali batasaasirwa, era abo abaayitibwanga “Abatali bange” ndibagamba nti: “Muli bantu bange”. Nabo baligamba nti: “Oli Katonda waffe.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda nate, oyagale omukazi omwenzi alina muganzi we, omwagale nga nze bwe njagala Abayisirayeli, newaakubadde nga bakyukira balubaale, ne baagala obugaati obukoleddwa mu mizabbibu emikalu.” Kale namugula ebitundu bya ffeeza kkumi na bitaano ne kilo kikumi mu ataano eza bbaale. Ne mmugamba nti: “Oteekwa okubeera awo ng'oli wange, okumala ekiseera kiwanvu, nga teweefuula malaaya wadde okuba n'omusajja omulala. Nange bwe ndyekuuma bwe ntyo ku lulwo.” Kubanga Abayisirayeli balimala ekiseera kiwanvu nga tebalina kabaka wadde omukulembeze, nga tebalina kitambiro wadde empagi entukuvu, nga tebalina bifaananyi bikozesebwa mu kulagula, wadde balubaale ab'omu maka. Naye oluvannyuma Abayisirayeli balikyuka ne badda eri Mukama Katonda waabwe. Era mu nnaku ez'oluvannyuma, balijja eri Mukama nga batya, ne bafuna ebirungi, Dawudi Kabaka waabwe by'agaba. Abayisirayeli muwulire Mukama ky'agamba, kubanga Mukama alina ky'avunaana abantu abali mu nsi eno. Tewali mazima wadde ekisa, era abantu tebamanyi Katonda mu nsi eno. Ekiriwo kwe kukolima, okulimba, okutemula, okubba n'okwenda. Okuzza emisango kweyongera bweyongezi era obutemu buddirira butemu. Ensi kyeriva ekala, na buli kiramu ekigiriko ne kifa. Ensolo zonna n'ebinyonyi n'ebyennyanja birifa. Mukama agamba nti: “Waleme kubaawo n'omu avunaana bantu, wadde abanenya. Be nvunaana ye mmwe bakabona. Mukola ensobi emisana n'ekiro, n'abalanzi nabo kye bakola nga mmwe. Nja kuzikiriza Yisirayeli nnyammwe. Abantu bange bazikirizibwa, olw'obutamanya. Mmwe bakabona nga bwe mugaanye okummanya, nange ndibagaana okuba bakabona bange. Era nga bwe mwerabidde amateeka gange, nze Katonda wammwe, nange ndyerabira abaana bammwe. “Bakabona gye bakoma okweyongera obungi, gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange. Ekitiibwa kyabwe ndikifuula ensonyi. Bagaggawalira ku bibi by'abantu bange, kyebava baagala abantu beeyongere okwonoona. Ng'abantu bwe bali, ne bakabona bwe baliba. Ndibabonereza olw'empisa zaabwe, mbasasuze olw'ebikolwa byabwe. Balirya naye tebalikkuta, balyenda naye tebalyala, kubanga banvuddeko nze Mukama, okusinza balubaale.” Mukama agamba nti: “Omwenge omukulu n'omusu, gumalawo okutegeera. Abantu bange beebuuza ku kitiititi, omuggo gwabwe gwe gubabuulira kye baagala okumanya. Bakoze ng'omukazi omwenzi: banvuddeko nze Katonda waabwe, ne beewaayo mu balubaale. Basalira ebitambiro ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emiti emiwanvu n'emyagaagavu, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi. “Abaana bammwe abawala kyebava beefuula bamalaaya, ne bakazi bammwe ne benda. Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula bamalaaya, wadde bakazi bammwe bwe beefuula abenzi, kubanga mmwe mwennyini mudda wabbali awamu n'abakazi bamalaaya ab'omu masabo, ne muweerayo wamu nabo ebitambiro. Abantu abatategeera balizikirira. “Newaakubadde mmwe Abayisirayeli temuli beesigwa gye ndi, naye ab'omu Buyudaaya baleme kusobya nga mmwe. Temusinzizanga Gilugaali, wadde e Betaveni. Era temulayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu.’ Abayisirayeli babambaavu ng'ente enduusi. Kale nze Mukama nnaabaliisa ntya ng'omwana gw'endiga mu ddundiro eggazi? Abayisirayeli basikiriziddwa okusinza ebitali Katonda. Kale basigale nga bwe bali. Bwe bamala okutamiira, beemalira mu bwenzi. Baagala ensonyi okusinga bwe baagala ekitiibwa. Balitwalibwa embuyaga, era balikwatibwa ensonyi olw'ebitambiro byabwe. “Muwulire kino mmwe bakabona, muwulirize mmwe Abayisirayeli. Mutege amatu mmwe ab'ennyumba ya kabaka. Musaliddwa omusango okubasinga mmwe, kubanga mwafuuka omutego e Mizupa, n'ekitimba ekyategebwa ku Lusozi Tabori, era mwafuuka obuya obwasimibwa e Sittimu. Naye ndibabonereza mwenna. Mmanyi Yisirayeli nga bw'afaanana, tayinza kunkisibwa. Yisirayeli akoze eby'obutali bwesigwa era ayonoonese.” Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe, kubanga balimu omwoyo ogw'obutali bwesigwa, era tebamanyi Mukama. Okwekulumbaza kw'Abayisirayeli kubalumiriza. Baligwa olw'ebibi byabwe, era n'abantu b'omu Buyudaaya baligwa wamu nabo. Bwe baligenda okunoonya Mukama baweeyo ebitambiro byabwe eby'endiga n'ente, tebalimuzuula, kubanga abavuddeko. Tebabadde beesigwa eri Mukama, era bazadde abaana abatali babe. Kale kaakano bajja kuzikirizibwa mangu awamu n'ennimiro zaabwe. Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya, n'ekkondeere mu Raama! Mulaye eŋŋoma mu Betaveni, muyite Benyamiini mu lutalo. Yisirayeli alisigala matongo ku lunaku olw'okuweerako ekibonerezo. Nnangirira mu bika bya Yisirayeli nti ebyo bigenda kutuukirira. Mukama agamba nti: “Abakungu ba Buyudaaya banyaze ebitundu bya Yisirayeli, ne bakyusa ensalo zaayo. Nja kubayiwako obusungu bwange, ng'abayiwako amazzi. Yisirayeli anyigirizibwa n'anyagibwako ebitundu bye, kubanga yakkiriza okukolera ku kiragiro eky'abo abatandimulagidde. Kyennaava nsanyaawo Yisirayeli, era ne mmalirawo ddala abantu b'omu Buyudaaya. “Yisirayeli bwe yalaba ng'alwadde, ne Buyudaaya bwe yalaba ebiwundu bye, Yisirayeli n'alaga mu Assiriya okusaba kabaka waayo amuyambe. Kyokka tayinza kubavumula, wadde okuwonya ebiwundu byabwe. Kubanga ndiba ng'empologoma, nnumbe Yisirayeli ne Buyudaaya. Nze mwene ndibataagulataagula ne nvaawo. Bwe ndiba nga mbawalabanya, tewaliba abawonya. Ndibaabulira, ne nzirayo gye mbeera, okutuusa lwe balikkiriza ensobi yaabwe ne bannoonya. Bwe balibonaabona, balifuba okunnoonya.” Abantu bagamba nti: “Mujje tudde eri Mukama, kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya, ye yatufumita, era ye alitunyiga ebiwundu. Mu nnaku bbiri oba ssatu alituzzaamu obulamu ne tubeera balamu mu maaso ge. Tufube okumanya Mukama. Ajja kujja gye tuli awatali kubuusabuusa, ng'olunaku bwe lukya era ng'enkuba esooka mu mwaka bw'efukirira ettaka.” Naye Mukama agamba nti: “Yisirayeli ne Buyudaaya nnaabakola ntya mmwe? Kubanga okwagala kwe munjagalamu, kuggwaawo mangu ng'olufu lw'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo, nga bukyali nkya. Kyennaavanga ntuma abalanzi bange gye muli n'obubaka obubalumiriza omusango, era obubazikiriza. Kye mbaagaza kimanyiddwa bulungi. Njagala kisa, sso si bitambiro. N'okumanya Katonda, kusinga ebitone ebyokebwa. “Naye nabo nga Adamu, baamenya endagaano gye nakola nabo. Gileyaadi kibuga ky'abo abakola ebibi era kijjudde ebitaba by'omusaayi. Bakabona bali ng'ekibinja ky'abanyazi abateega omuntu. Batemulira abantu mu kkubo erigenda a Sekemu. Ddala bakola ebiswaza. Ndabye eky'ekivve mu Yisirayeli: Abayisirayeli si beesigwa era boonoonese. Era nammwe ab'omu Buyudaaya, ntaddewo ekiseera eky'okubabonererezaamu olw'ebyo bye mukola. “Buli lwe njagala okuwonya abantu bange Abayisirayeli, kye ndaba gye misango gye bazza, n'ebibi ab'omu Samariya bye bakola. Bakolera ku bulimba. Bayingira mu mayumba ne babba, era n'ebweru banyaga ku bantu ebintu mu makubo. Tebakirowoozaako nti mmanyi ebibi byabwe byonna, sso ng'ebikolwa byabwe bibeetoolodde, era nga babikola mbiraba.” Mukama agamba nti: “Abantu basanyusa kabaka nga bakuusakuusa, era basanyusa abakungu be nga babalimbalimba. Bonna ba nkwe, era si beesigwa. Bali ng'akabiga akakumibwa omufumbi w'emigaati, akateetaaga kuseesaamu, okuva lw'amala okugoya obutta, okutuusa lwe buzimbulukuka. Ku lunaku kabaka lw'akola embaga, abanyoomi abo basiruwaza kabaka n'abakungu be, nga babatamiiza omwenge era nabo ne gubakwata. Ddala bengerera ng'akabiga nga bateesa okukola akabi. Obusungu bwabwe bwaka mpolampola ekiro kyonna, ku makya ne bubuubuuka. Mu bbugumu ery'obusungu bwabwe, batemula abafuzi baabwe. Bakabaka baabwe bonna battiddwa, naye tewali muntu n'omu ansaba buyambi.” Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bali ng'omugaati oguyiddeko oluuyi olumu. Beetaba n'ab'amawanga amalala, ne batamanya ng'okwetaba n'abagwira kubamalamu amaanyi, era ng'eggwanga lyabwe lizikirira. Okwekulumbaza kw'Abayisirayeli kwe kubalumiriza. Newaakubadde ebyo byonna bibaddewo, naye tebakomyeewo gye ndi nze Mukama, Katonda waabwe. Yisirayeli ali ng'ejjiba essirusiru eritalina magezi: abantu be, beegayirira Misiri abayambe, ate ne baddukira eri Assiriya. Naye buli gye baddukira, nja kubatega ekitimba kyange, mbakwase ng'ebinyonyi. Nja kubabonereza olw'ebibi byabwe. “Zibasanze, kubanga bawabye ne banvaako. Ka bazikirire, kubanga banjeemedde. Nayagala okubanunula, naye banjogerako bya bulimba. Tebaneegayiridde mu mazima, naye beekulukuunya ku ttaka ne bakaaba. Bettanira ŋŋaano na mwenge, ne banjeemera. Newaakubadde nga nze nabagunjula era ne mbawa amaanyi, naye era banneekobera. Badda eri ebyo ebitali Katonda. Bali ng'omutego omukyamu oguteesigika. Abakungu baabwe balittibwa olw'okwogera nga beewaana. Era balisekererwa mu nsi y'e Misiri.” Mukama agamba nti: “Mufuuwe eŋŋombe! Abalabe bajja ng'empungu okulumba ensi yange, kubanga abantu bange bamenye endagaano gye nakola nabo, era bajeemedde amateeka gange. Wadde balimpita Katonda waabwe, ne bagamba nti: ‘Ffe Abayisirayeli tukumanyi’, naye bagaanye ekirungi. N'olwekyo abalabe baabwe balibayigganya. “Bataddewo bakabaka, naye nga tebakikola ku lwange. Balonze abakulembeze nga tebantegeezezza. Baddidde ffeeza ne zaabu waabwe ne bakola ebifaananyi ebinaabaviirako okuzikirira. Nkyawa ente ennume eya zaabu, ab'omu Samariya gye basinza. Mbasunguwalidde. Balikoma ddi okwonoona? Kubanga omukozi Omuyisirayeli ye yakola ekifaananyi ekyo, n'olwekyo ekifaananyi ekyo si Katonda n'akatono. Ente ennume eya zaabu, ab'omu Samariya gye basinza, eribetentebwa. Baasiga mpewo, balikungula mbuyaga. Eŋŋaano etebaze, tevaamu mmere. Ne bw'eriba ebaze, ab'amawanga amalala baligirya. “Yisirayeli efuuse ng'amawanga amalala, era tekyagasa: eri ng'ekibya ekyatise. Kubanga Abayisirayeli bagenze mu Assiriya okusaba obuyambi. Bali ng'entulege eyeewaggula, etambula yokka. Baguliridde ab'amawanga amalala okubakuuma. Kale nja kubakuŋŋaanyiza wamu mbabonereze, era banaatera okukaaba, kabaka w'Abassiriya bw'anaabanyigiriza. “Abayisirayeli gye bakoma okuzimba emyaliiro olw'okuggyawo ebibi, gye bakoma okwonoona. Newaakubadde mbawandiikira amateeka gange agatabalika olw'obungi, bagagaana ng'ekintu ekigwira. Banyumirwa okumpa ebitambiro. Batambira ensolo, ne balya ennyama ey'ebitambiro ebyo. Naye nze Mukama sibasanyukira, era kaakano, nja kujjukira ebibi byabwe mbabonereze olw'ebibi ebyo. Bajja kuddayo mu Misiri! “Abayisirayeli bazimbye amayumba, naye beerabidde eyabatonda. Ab'omu Buyudaaya bongedde okuzimba ebibuga ebiriko ebigo. Naye nja kusindika omuliro gwokye ebibuga byabwe n'ebigo byabwe.” Abayisirayeli muleme kusanyuka ng'ab'amawanga amalala, kubanga mweggye ku Katonda wammwe, ne mutaba beesigwa gy'ali. Mwetunze nga bamalaaya eri lubaale Baali, era mwagadde eŋŋaano ku buli gguuliro, nga gye mubala nti ye mpeera gy'abasasudde. Naye egguuliro n'essogolero binaatera obutabawa kimala, n'omwenge omusu gunaatera okubaggwaako. Abayisirayeli tebajja kusigala mu nsi ya Mukama, naye bajja kuddayo mu Misiri, era banaaliiranga mu Assiriya emmere eteri nnongoofu. Mu nsi ezo engwira, tebaasobolenga kutona mwenge eri Mukama, wadde okuleeta ebitambiro byabwe gy'ali. Emmere gye banaalyangako, eneebafuulanga abatali balongoofu, ng'emmere eriirwa awali omufu. Banaagiryanga kukkuta bukkusi, teetwalibwengako kuweebwayo ng'ekirabo mu Ssinzizo lya Mukama. Mulikola ki ku lunaku olukulu, olunaku olw'Embaga ya Mukama? Okuzikirira bwe kulituuka, abantu ne basaasaana, Abamisiri balibakuŋŋaanya, ne baziikibwa abatuuze b'e Ninfiisi. Ebyobugagga byabwe ebya ffeeza ebisanyusa, n'eweema zaabwe, birimeramu omuddo n'amaggwa ne bizika. Ekiseera eky'okubonererezaamu kituuse. Kye kiseera, abantu mwe banaafunira ekibagwanira, era Yisirayeli ajja kukimanya. Mujja kugamba nti: “Omulanzi musirusiru. Omusajja ono afuuyirirwa mwoyo, alaluse.” Mugamba bwe mutyo, kubanga ekibi kyammwe kinene, era obukyayi bwammwe bungi. Nze mulanzi, Katonda gw'atumye okulabula abantu be Abayisirayeli. Naye buli we ndaga, bantega emitego, ng'abatega ekinyonyi. Ne mu nnyumba yennyini eya Katonda, abantu balabe ba mulanzi. Beeyonoonye nnyo, nga bwe beeyonoona e Gibeya. Katonda alijjukira okwonoona kwabwe, n'ababonereza olw'ebibi byabwe. Mukama agamba nti: “Nasanga Yisirayeli, ng'asanga emizabbibu egikulira mu ddungu. Nalaba bajjajjammwe, ng'alaba ebibala by'omutiini ebisooka okwengera mu mwaka. Naye bwe baatuuka ku Lusozi Pewori, ne batandika okusinza Baali, ne bafuuka ekyenyinyalwa, nga balubaale be baayagala. Ekitiibwa kya Yisirayeli kiribuuka mu bbanga, ne kigenda ng'ekinyonyi: tewaliba baana bazaalibwa, wadde abakazi abali embuto, wadde abazifuna. Naye ne bwe balizaala abaana, era ndibabaggyako, ne batasigazaawo mulamu. Abantu bano bwe ndibavaako, ziribasanga!” Ndaba abaana ba Yisirayeli nga bayiggibwa ne battibwa. Ayi Mukama, kiki kye mba nkusaba okolere abantu bano? Leka bakazi baabwe baveemu embuto, era okaze amabeere gaabwe. Mukama agamba nti: “Baatandikira Gilugaali okukola ebibi. Eyo gye natandikira okubakyawa. Ndibagoba mu nsi yange olw'ebibi bye bakoze. Siriddayo kubaagala. Abakulembeze baabwe bonna bajeemu. Abayisirayeli bali ng'omuti ogutemeddwa ne gukala emirandira, ogutakyabala bibala. Tebalizaala baana. Naye ne bwe balizaala, nditta abaana baabwe abaagalwa.” Katonda wange aliboola abantu be, kubanga tebamuwulira. Baliba babungeese mu mawanga. Abayisirayeli bali ng'omuzabbibu ogubala ennyo. Gye baakoma okweyongera obungi, gye baakoma n'okuzimba zaalutaari. Ensi yaabwe gye yakoma okweyongera okuba ennungi, gye baakoma n'okulungiya empagi ez'amayinja ze basinza. Emitima gyabwe tegitereera ku kimu. Kale kaakano bajja kubonaabona olw'ebibi byabwe. Katonda ajja kumenyawo zaalutaari zaabwe, era azikirize n'empagi ez'amayinja ze basinza. Banaatera okugamba nti: “Tetulina kabaka, kubanga tetutya Mukama. Naye kabaka kiki ky'ayinza okutukolera?” Boogera bigambo bugambo, ne balayira eby'obulimba mu kukola endagaano. Ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro. Ab'e Samariya balitya, era balikungubaga olw'okuviibwako ennyana eya zaabu ey'e Betaveni. Bo awamu ne bakabona abagisinza, baligikaabira. Baliwuubaala bw'eriggyibwako ekitiibwa kyayo. Nayo eritwalibwa mu Assiriya, okuba ekirabo kya kabaka omukulu. Abayisirayeli balikwatibwa ensonyi ne baswala, olw'amagezi ge baagoberera. Kabaka w'e Samariya alitwalibwa ng'ekibajjo ky'omuti bwe kitwalibwa ku mazzi. N'ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, Abayisirayeli gye basinziza ebifaananyi, birizikirizibwa. Amaggwa n'omuddo birimera ku zaalutaari zaabwe. Baligamba ensozi nti: “Mutubuutikire!” n'obusozi nti: “Mutugweko!” Mukama agamba nti: “Abayisirayeli tebalekangayo kukola bibi, okuviira ddala mu kiseera kye baakoleramu ebibi e Gibeya. Kale olutalo lulibakwatira e Gibeya. Ndirumba abantu bano aboonoonyi, ne mbabonereza. Amawanga galikuŋŋaanyizibwa okubalwanyisa, era balibonerezebwa olw'ebibi byabwe ebingi. “Yisirayeli edda yali ng'ente ennyana eyigiriziddwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano. Naye nasalawo okumuteeka ekikoligo mu bulago bwe obulungi, mmukozese emirimu egy'amaanyi. Ab'omu Buyudaaya balikabala, ab'omu Yisirayeli balikuba amavuunike. Nagamba nti: ‘Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, musige obutuukirivu, mukungule emikisa eginaava mu kunjagala. Kino kye kiseera mmwe okudda gye ndi nze Mukama. Nja kujja mbayiweko emikisa eginaabalokola.’ Naye musize ekibi ne mukungula ebibala byakyo. Mulidde ebibala eby'obulimba bwammwe, kubanga mwesiga amagaali gammwe, n'abatabaazi bammwe abangi. N'olwekyo olutalo lulisasamaza abantu bammwe, era ebigo byammwe byonna birizikirizibwa. Kiriba nga bwe kyali, Kabaka Salumaani bwe yazikiriza ekibuga Betirarubeeli mu lutalo, abakazi ne battibwa wamu n'abaana baabwe. Bwe kityo bwe kiriba ne ku mmwe abantu b'e Beteli, olw'ebibi byammwe ebyenkanidde awo obungi. Olutalo luliba lwakatandika, kabaka wa Yisirayeli alisaanyizibwawo.” Mukama agamba nti: “Yisirayeli bwe yali ng'akyali mwana muto, namwagala, ne mmuyita okuva e Misiri, nga mwana wange. Naye gye nakoma okubayita, gye baakoma okunvaako. Baawaayo ebitambiro eri Baali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole. Sso nga nze nayigiriza Yisirayeli okutambula. Nabawambaatira mu mikono gyange, naye tebaategeera nga nze nabalabirira. Nabasika n'ekisa era n'okwagala bajje gye ndi. Nabasitula ne mbawambaatira ng'awambaatira omwana omuto, nakutama ne mbaliisa. “Baliddayo mu nsi y'e Misiri, era Assiriya ye alibafuga, kubanga baagaana okudda gye ndi. Olutalo luligwa mu bibuga byabwe, ne lumenya enzigi zaabyo, ne lubazikiriza, kubanga baakola ebyo bo bennyini bye baagala. Abantu bange bamaliridde okunvaako. Balikaaba olw'ekikoligo ekibaliko, naye tewaliba akibaggyako. “Nnaakuwaayo ntya Yisirayeli? Nnaakwabulira ntya? Nnaakuzikiriza ntya nga bwe nazikiriza Aduma, wadde okukuyisa nga bwe nayisa Zeboyiimu? Omutima gwange teguŋŋanya kukikola, kubanga mpulira nkwagala nnyo. “Sirikubonereza nga nsunguwadde. Siriddayo kuzikiriza Yisirayeli, kubanga ndi Katonda sso si muntu. Nze Omutuukirivu ndi wamu naawe. Sirijja gy'oli nga nsunguwadde. “Abantu bange balingoberera nze Mukama, bwe ndiwuluguma ng'empologoma. Balyanguwa okujja gye ndi, nga bava ebugwanjuba. Baliva mu Misiri, nga banguwa ng'ebinyonyi, era ng'ejjiba, nga bava mu Assiriya, era ndibazzaayo mu maka gaabwe. Nze Mukama nze njogedde.” Mukama agamba nti: “Abayisirayeli banneetooloozezza obulimba n'obukuusa. Naye abantu b'omu Buyudaaya nkyabamanyi nze Katonda, era beesigwa gye ndi nze Omutuukirivu. “Abayisirayeli bagoba mpewo olunaku lwonna, bawondera mbuyaga y'ebuvanjuba. Beeyongera kukola bya bulimba na bya bukambwe. Bakola endagaano ne Assiriya, era batwala omuzigo mu Misiri.” Mukama alina ky'avunaana abantu ab'omu Buyudaaya, era ajja kubonereza Yisirayeli, olw'engeri abantu baayo gye beeyisaamu. Ajja kubasasula olw'ebyo bye bakola. Jjajjaabwe Yakobo yalwana ne muganda we Esawu, nga bakyali mu lubuto lwa nnyaabwe. Yakobo bwe yakula, n'alwanyisa Katonda. Yalwana ne malayika, n'awangula. Yakaaba n'asaba okumuwa omukisa. E Beteli, Katonda yasisinkana Yakobo, era eyo gye yayogerera naffe. Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna, erinnya lye ye Mukama. Kale mmwe bazzukulu ba Yakobo, mukyuke mudde eri Mukama, era mumwesige. Mubeerenga ba kisa era ba mazima. Bulijjo mwesigenga Katonda wammwe. Mukama agamba nti: “Abayisirayeli si beesigwa. Bali ng'omusuubuzi akozesa minzaani eteri ntuufu, ayagala okunyaga. Bagamba nti: ‘Tuli bagagga, twefunidde ebintu. Tewali ayinza kutulumiriza nti twagaggawala mu bukumpanya.’ Naye nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndiddamu okubasuza mu nsiisira, nga ze mwalimu, bwe najja gye muli mu ddungu. “Nayogeranga n'abalanzi, era ne mbongera okulabikirwa, era ne ndabula abantu bange, nga mpita mu balanzi. Abakola ebibi mu Gilugaali, gye basalira ente ennume ez'ebitambiro, zaalutaari zaabwe zirifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro.” Yakobo yaddukira mu nsi ya Aramu. Era okusobola okuwasaayo omukazi, yakolera omuntu omulala, n'amulundira endiga ze. Mukama yatuma omulanzi okuggya Abayisirayeli mu buddu mu Misiri, n'okubalabirira. Abayisirayeli basunguwazizza nnyo Mukama. Basaanira kufa, olw'emisango gye bazza. Mukama alibabonereza olw'okumunyooma. Ab'omu kika kya Efurayimu bwe baayogeranga, ab'omu Bika ebirala mu Yisirayeli baakankananga. Abeefurayimu baatiibwanga. Naye nga bwe baayonoona nga basinza Baali, bajja kufa. Era kaakano beeyongera bweyongezi okwonoona, nga bakola mu byuma ebisaanuuse, ebifaananyi nga bya kusinza. Bakola ebifaananyi mu ffeeza, ebiyiiyizibwa amagezi g'abantu, era ebikolebwa abantu. Awo ne balyoka bagamba nti: “Mubiwe ebitambiro.” Abantu bayinza batya okunywegera ebifaananyi bino eby'ennyana? N'olwekyo abantu bano, baliggwaawo nga kalenge ow'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali nkya. Baliba ng'ebisusunku, embuyaga y'akazimu by'eggya mu gguuliro n'ebitwala, era ng'omukka, oguyita mu kituli, ne gufuluma. Mukama agamba nti: “Nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Temulina Katonda mulala, wabula nze. Nze Mulokozi wammwe nzekka. Nabalabirira nga muli mu nsi enkalu ey'eddungu. Naye bwe mwayingira mu nsi ennungi, ne mulya ne mukkuta, olwo mwekulumbaza ne munneerabira. Kale ndibalumba ng'empologoma bw'erumba. Ndibateega mu kkubo ng'engo bw'eteega. Ndibalumba ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, ne mbayuzaamu. Ndibataagulataagula ng'ensolo ey'omu ttale, era ndibaliirawo ng'empologoma. “Ndibazikiriza mmwe Abayisirayeli. Ani aliyinza okuyamba? Mwasaba okubawa kabaka n'abakulembeze. Naye banaayinza batya okubawonya mmwe? Nabawa bakabaka nga nsuguwadde, era ne mbabaggyako nga ndiko ekiruyi. “Ekibi n'omusango ebya Yisirayeli bisibiddwako era biterekeddwa. Yisirayeli aweereddwa omukisa abe mulamu, naye talina magezi kugukozesa. Ali ng'omwana atuusizza okuzaalibwa, agaana okufuluma mu lubuto lwa nnyina. Sirinunula bantu bano mu magombe, wadde okubawonya okufa. Ggwe Walumbe, leeta ebibonyoobonyo byo! Abayisirayeli ne bwe baliba obulungi mu baganda baabwe, nze Mukama ndisindika embuyaga ey'ebuvanjuba eva mu ddungu, n'ekaza ensulo zaabwe n'enzizi zaabwe. Erimalawo ebyobugagga byonna bye baatereka. Ab'omu Samariya bajja kubonerezebwa olw'okujeemera nze Katonda waabwe. Bajja kufiira mu lutalo. Abaana baabwe abawere bajja kutirimbulwa, n'abakazi abali embuto bajja kubaagibwa.” Mmwe Abayisirayeli, mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ebibi byammwe bibaleetedde okwesittala ne mugwa. Mujje nga muteeseteese okwegayirira kwammwe, mudde eri Mukama, mumugambe nti: “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, osanyukire ebirungi, tulyoke tusobole okukutendereza. Assiriya teyinza kutuwonya, era tetujja kwebagala mbalaasi za lutalo. Bye twakola n'emikono gyaffe tetukyaddayo kubiyita Katonda waffe, kubanga ggwe okwatirwa ekisa abo abatalina abayamba.” Mukama agamba nti: “Ndikomyawo abantu bange gye ndi. Ndibaagala n'omutima gwange gwonna, kubanga sikyabalinako busungu. Ndinnyikiza Abayisirayeli ng'enkuba bw'ennyikiza ettaka. Balyanya ng'ebimuli, balisimba emirandira mu ttaka, ng'emiti gy'oku Lebanooni. Amatabi gaabwe galyagaagala, ne banyirira ng'omuti omuzayiti. Baliwunya akawoowo, ng'emiti egy'oku Lebanooni. Balikomawo ne babeera mu kisiikirize kyange. Balyanya ng'eŋŋaano, ne bamulisa ng'omuzabbibu. Balyatiikirira ng'omwenge ogw'e Lebanooni. Abayisirayeli tebaliddayo kusinza bifaananyi: nnaabawanga bye bansaba, era nnaabalabiriranga. Nnaabawanga ekisiikirize ng'omuti ogutaggwaako makoola. Nze nsibukamu emikisa gyabwe gyonna.” Abalina amagezi bategeere ebyo, era babyekkaanye, kubanga Mukama by'akola bituufu, era abantu abakola ebituufu banaabigobereranga. Naye aboonoonyi baneesittalanga ne bagwa, kubanga tebabifaako. Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Yoweeli, mutabani wa Petweli. Muwulire kino mmwe abakadde, mutege amatu mmwe mwenna abatuuze b'omu Buyudaaya. Kino kyali kibaddewo mu mirembe gyammwe? Oba mu mirembe gya bajjajjammwe? Mubuulireko abaana bammwe, bo bakibuulireko be bazaala nabo bakibuulireko ab'omulembe oguddirira. Ebibinja n'ebibinja by'enzige bizinze ebirime. Ebirekeddwawo ekibinja ekimu, ekibinja ekirala kibiwemmense. Mmwe abatamiivu, muzuukuke, mukaabe amaziga. Mmwe abanywi b'omwenge, mukungubage, kubanga emizabbibu omukolebwa omwenge ogubawoomera, gizikiriziddwa! Eggye ly'enzige lizinze ensi yange. Za maanyi era nnyingi nnyo tezibalika. Amannyo gaazo masongovu, era moogi ng'ag'empologoma. Zizikirizza emizabbibu gyange, zigisasambuddeko ebikuta, amatabi gaagyo gafuuse meeru. Mukungubage ng'omuwala eyeesibye ekikutiya, okukungubagira omusajja gw'abadde agenda okufumbirwa. Bakabona abaweereza ba Mukama bakungubaga, kubanga tewakyali mmere ya mpeke era n'ebyokunywa, ebiweebwayo mu Ssinzizo lya Mukama! Ennimiro zizise, ensi ewuubadde, kubanga eŋŋaano ezikiriziddwa, emizabbibu gikaze, n'emiti emizayiti giwotose. Mmwe abalimi munakuwale, mmwe abalabirira emizabbibu, mukungubage. Kubanga eŋŋaano ne bbaale, n'ebirala byonna ebikungulwa bizikiridde. Emizabbibu giwotose, emitiini giyongobedde, omukomamawanga n'olukindu n'emiti emirala gyonna egy'ebibala, gikaze. Mmwe bakabona, mwesibe ebikutiya mukungubage. Mmwe abaweereza ku alutaari, mukube ebiwoobe. Mmwe abaweereza ba Katonda wange, muyingire mu Ssinzizo, musule nga mwambadde ebikutiya, kubanga emmere ey'empeke era n'ebyokunywa, ebiweebwayo mu Ssinzizo lya Katonda wammwe, tebikyaleetebwa. Mulangirire okusiiba, muyite olukuŋŋaana. Mukuŋŋaanye abakulembeze n'abantu bonna ab'omu Buyudaaya. Bajje mu Ssinzizo lya Mukama, Katonda wammwe, mumukaabirire. Olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka. Lwe lunaku lwa Mukama, Omuyinzawaabyonna, lw'alireeterako okuzikirira! Olunaku olwo nga lwa ntiisa! Ebirime byaffe bizikiriziddwa nga ffe tutunula. Essanyu n'okujaguza biweddewo mu Ssinzizo lya Katonda waffe. Ensigo zifiira mu ttaka ekkalu. Amawanika galekeddwawo, amaterekero goonoonese, kubanga tewakyali mmere ya mpeke eterekebwa. Ensolo zisinda, ente zisobeddwa, kubanga tezikyalina muddo. N'amagana g'endiga nago gabonaabona. Ayi Mukama, nkukaabirira ggwe, kubanga omuddo ogw'omu ttale n'emiti egy'omu nnimiro bikaze, biri ng'ebyokeddwa omuliro. N'ensolo ez'omu ttale zikukaabirira, kubanga emigga gikalidde amazzi, n'omuliro gwokezza omuddo ogw'omu ttale. Mufuuwe eŋŋombe mu Siyooni, mukube enduulu ku lusozi lwange olutukuvu. Abatuuze b'omu Buyudaaya bonna bakankane, kubanga olunaku lwa Mukama lujja, lunaatera okutuuka. Luliba lunaku lwa kifu n'ekikome, era lwa bire n'ekizikiza ekikutte. Eggye eddene ery'enzige lijja, nga liri ng'ekizikiza ekibikka ensozi. Tewabangawo zizenkana bungi, era teziribaawo nate emirembe gyonna. We zirya ebimera waba ng'omuliro we gwokezza. Mu maaso gye ziraga, ensi eri ng'Ennimiro ya Edeni. Naye emabega gye ziva, lye ddungu ejjereere. Tezirina kye zitaliza. Zifaanana ng'embalaasi, zidduka ng'embalaasi ez'omu lutalo. Zibuukira ku ntikko z'ensozi, nga ziwuuma ng'amagaali. Zitulika ng'ekisambu ekyokebwa omuliro. Zisimbye ennyiriri ng'eggye ery'amaanyi eryetegese okulwana. Abantu bakwatibwa entiisa nga zisembera. Amaaso ga buli omu gafuuka ebbala. Zirumba ng'abalwanyi, zirinnya ebigo ng'abaserikale. Zitambulira mu kkubo lyazo, tewali n'emu eva ku mugendo. Tewali eziyiza ginnaayo kugenda, buli emu etambulira mu kkubo lyayo. Ziwaguza awali abakuumi ne watabaawo aziziyiza. Zifubutuka ne zizinda ekibuga. Ziwalampa ebibuga ne zirinnya, ne zituuka ku nnyumba ne ziyingirira mu madirisa ng'ababbi. Ensi ekankana nga zisembera, eggulu lujugumira. Enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka. Mukama aduumira eggye lye. Ebibinja ebimuwulira bingi nnyo era bya maanyi. Olunaku lwa Mukama lukulu, era lwa ntiisa nnyo! Ani ayinza okulugumira? Mukama agamba nti: “Naye ne kaakano, mwenenyereze ddala, mudde gye ndi nga musiiba, nga mukaaba amaziga. Emitima gyammwe egimenyese gye giba giraga bwe muboneredde. Okuyuza ebyambalo byammwe tekumala.” Mudde eri Mukama, Katonda wammwe, kubanga wa kisa era ajjudde okusaasira. Alwawo okusunguwala, akwatirwa nnyo ekisa, era addiramu aboonoonyi. Oboolyawo Mukama, Katonda wammwe, anaakyusa ekirowoozo kye n'abaddiramu, n'aleka ng'abawadde omukisa, ne mubaza ebibala, ne musobola okumutonera ebirabo eby'emmere ey'empeke n'ebyokunywa. Mufuuyire eŋŋombe mu Siyooni, mulangirire okusiiba, era muyite olukuŋŋaana. Mukuŋŋaanye abantu mulangirire olukuŋŋaana olutukuvu. Mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato, n'abawere abayonka. N'abagole abaakafumbiriganwa, bave mu bisenge byabwe bajje. Bakabona abaweereza Mukama bakaabe amaziga nga bali wakati w'omulyango gw'Essinzizo ne alutaari bagambe nti: “Saasira abantu bo, ayi Mukama! Totuleka kunyoomebwa na kusekererwa ba mawanga malala nga bagamba nti: ‘Katonda wammwe ali ludda wa?’ ” Awo Mukama n'alumirwa ensi ye, era n'asaasira abantu be. N'addamu abantu be n'agamba nti: “Kaakano nja kubawa eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo ogw'emizayiti, ebijja okubakkusa. Era sikyabaleka kunyoomebwa ba mawanga abalala. Nja kubaggyako eggye ery'enzige eryava mu bukiikakkono. Ezimu nja kuzigobera mu ddungu: ebibinja ebikulembeddemu mbigobere mu Nnyanja Enfu. N'ebibinja ebisembayo emabega mbigobere mu Nnyanja Eyaawakati. Emirambo gyazo gijja kuwunya ekivundu. Nja kuzisaanyaawo olwa byonna bye zikoze. “Totya ggwe ensi, sanyuka era ojaguze olw'ebikulu Mukama by'akoze. “Temutya mmwe ensolo ez'omu ttale, kubanga omuddo ogw'omu ttale gumeze, emiti gibaze ebibala, emitiini n'emizayiti gibaze ebibala bingi. Musanyuke mmwe abantu ba Siyooni, mujaguze olw'ebyo Mukama, Katonda wammwe by'abakoledde, kubanga abawa enkuba esooka mu kipimo ekituufu. Abatonnyeseza enkuba nnyingi: esooka n'eyo ejja oluvannyuma, nga bwe yagibatonnyesezanga edda. Amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galibooga omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti. Ndibaddizaawo bye mwafiirwa ebyaliibwa ebibinja by'enzige ez'eggye eddene, lye nasindika okubalumba. Kale munaafunanga ebyokulya bingi, munaalyanga ne mukkuta, ne mutendereza Mukama, Katonda wammwe, abakoledde ebyewuunyisa. Abantu bange tebaliddayo kunyoomebwa. Olwo mmwe Abayisirayeli lwe mulimanya nga ndi wakati mu mmwe, era nga nze Mukama, Katonda wammwe, era tewali mulala. Abantu bange tebaliddayo kunyoomebwa. “Oluvannyuma, ndigabira bonna mwoyo wange. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga ebirijja. N'abakadde mu mmwe baliroota ebirooto. Abavubuka bammwe balirabikirwa. Era mu nnaku ezo, abaddu n'abazaana ndibagabira mwoyo wange. “Ndiraga ebyamagero ku ggulu ne ku nsi. Walibaawo omusaayi n'omuliro, n'empagi ez'omukka. Enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi gulimyuka ng'omusaayi. Ebyo bye birikulembera olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa. Era buli alikoowoola Mukama alirokolebwa, kubanga ku Lusozi Siyooni ne mu Yerusaalemu, walibaawo abaliwona nga Mukama bwe yagamba. Era mu baliwonawo, walibaawo Mukama b'ayita.” Mukama agamba nti: “Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo, ndizzaawo emikisa gya Buyudaaya ne Yerusaalemu. Ndikuŋŋaanya ab'amawanga gonna, ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yehosafaati, era nga bali eyo, ndibasalira omusango olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayeli, kubanga baabasaasaanya mu mawanga, ne bagabana Yisirayeli ensi yange. Baakubira abantu bange akalulu okubagabana. Baatunda abalenzi okusasulira abakazi bamalaaya, ne batunda abawala okugula omwenge, era ne bagunywa. “Mwagala kunkola ki mmwe Tiiro ne Sidoni, n'ebitundu byonna ebya Filistiya? Mulina kye mwagala okunneesasuza? Bwe muba mwagala okunneesasuza, nange ndyanguwa mangu okubeesasuza, kubanga mututte ffeeza wange ne zaabu wange, era mututte mu masabo gammwe ebintu byange ebirungi era eby'omuwendo. Abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu mwabaggya mu nsi yaabwe, ne mubatwala ewala, ne mubatunda mu Bayonaani. Naye kaakano nja kubakumamu omuliro, baveeyo gye mwabatunda, nammwe ndyoke mbakole ekyo kye mwabakola. Nja kuleka batabani bammwe ne bawala bammwe batundibwe mu bantu b'omu Buyudaaya, era nabo babatunde mu bantu b'e Seeba, eggwanga eriri ewala. Nze Mukama, Nze njogedde. “Mulangirire kino mu mawanga, mutegeke olutalo. Muyite abasajja ab'amaanyi, abaserikale bonna beesowoleyo bajje. Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, n'ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu. N'omunafu agambe nti ‘Nja kulwana.’ Mwanguwe mujje mmwe, ab'amawanga gonna ageetooloddewo, mukuŋŋaanire eyo mu kiwonvu.” Serengesa eyo, ayi Mukama, abasajja bo ab'amaanyi. “Ab'amawanga gonna basituke baserengete mu kiwonvu kya Yehosafaati, kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetooloddewo. Boonoonye nnyo! Mubasale n'ebiwabyo ng'eŋŋaano etuuse okukungulwa, mubasogole ng'emizabbibu egijjudde mu ssogolero ne libooga.” Abantu enkumi n'enkumi bali mu kiwonvu eky'okusalirwamu omusango, kubanga eyo olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka. Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zireseeyo okwaka. Mukama awulugumira mu Siyooni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemu, eggulu n'ensi ne bikankana. Naye Mukama ye aliba ekiddukiro ky'abantu be, ekigo ekitaasa Abayisirayeli. “Kale olwo mulimanya nga Nze Mukama, Katonda wammwe, abeera mu Siyooni, olusozi lwange olutukuvu. Yerusaalemu kiriba kibuga kitukuvu, tewaliba bagwira bakiwangula nate. “Mu nnaku ezo, ennimiro z'emizabbibu ziribikka ensozi, n'ente ez'amata ziriba ku buli kasozi. Amazzi galijjula mu bugga bwonna obw'omu Buyudaaya. N'ensulo y'amazzi erikulukuta okuva mu Ssinzizo lya Mukama, n'efukirira ekiwonvu Sittimu. “Misiri erifuuka matongo, ne Edomu erifuuka ddungu, kubanga abantu b'omu nsi ezo baalumba Buyudaaya, ne batta abantu baamu abatalina musango. Naye Buyudaaya ne Yerusaalemu binaabeerangamu abantu ennaku zonna. Ndiwoolera eggwanga olw'abo abattibwa, siritaliza bazzizza musango, kubanga nze Mukama, nja kubeeranga ku Siyooni.” Bino bye bigambo bya Amosi, omu ku basumba b'e Tekowa. Bino byonna ebifa ku Yisirayeli Katonda yabiraga Amosi, nga Wuzziya ye kabaka wa Buyudaaya, ne Yerobowaamu, mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Yisirayeli, ng'ekyabulayo emyaka ebiri okutuuka ku kukankana kw'ensi. Amosi yagamba nti: “Mukama awulugumira ku Lusozi Siyooni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemu. Amalundiro g'abasumba gakala, n'omuddo ku ntikko y'Olusozi Karumeeli guwotoka.” Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Damasiko bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza. Baabonyaabonya abantu b'e Gileyaadi mu bukambwe obungi. Kyendiva nkozesa omuliro ku lubiri lwa kabaka Azayeeli, ne njokya ebigo bya kabaka Benadaadi. Ndimenya ebisiba enzigi z'ekibuga Damasiko, ne mmalawo ab'omu Kiwonvu ky'e Aveni, n'omufuzi w'e Betedeni. Abantu b'omu Siriya balitwalibwa nga basibe mu nsi y'e Kiiri.” Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Gaaza bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baatwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, ne babatunda mu Edomu. 2:4-7; Zek 9:5-7 Kyendiva nkoleeza omuliro ku kigo ky'ekibuga Gaaza, ne gwokya amayumba gaakyo. Ndimalawo abafuzi b'omu bibuga Asudoodi ne Asukelooni. Ndibonereza ekibuga Ekurooni, era n'Abafilistiya.” Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Tiiro bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baatwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, mu Edomu, ne batakuuma ndagaano ey'omukwano gye baakola nabo. 11:21-22; Luk 10:13-14 Kyendiva nkoleeza omuliro ku bisenge by'ekibuga Tiiro, ne gwokya amayumba gaakyo.” Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Edomu bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baayigganya baganda baabwe Abayisirayeli, ne babatta awatali kusaasira n'akatono. Obusungu bwabwe ne butakendeerako, ne babeera nabwo ennaku zonna. 35:1-15; Ob 1-14; Mal 1:2-5 Kyendiva nkoleeza omuliro ku kibuga Temani era gulyokya amayumba g'e Bozura.” Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Ammoni bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga mu ntalo ze baalwana okugaziya ensi yaabwe, baabaaga abakazi b'e Gileyaadi abali embuto. Kyendiva nkoleeza omuliro ku bisenge by'ekibuga Rabba ne gwokya amayumba gaakyo. Walibaawo okuleekaana ku lunaku olw'olutalo, era okulwana kuliwuuma nga kibuyaga. Kabaka waabwe aliwaŋŋangusibwa awamu n'abakungu be.” Mukama agamba nti: “Abantu b'e Mowaabu bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baayokya amagumba ga kabaka w'e Edomu, ne gafuuka evvu. Zef 2:8-11 Kyendiva nkoleeza omuliro ku nsi y'e Mowaabu, era gulyokya amayumba g'e Keriyooti. Abantu b'e Mowaabu balifiira mu kasasamalo k'olutalo, ng'abatabaazi baleekaana, era nga bafuuwa eŋŋombe. Ndisaanyaawo omufuzi w'e Mowaabu awamu n'abakungu bonna ab'omu nsi eyo.” Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Buyudaaya bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza kubanga bagaanye amateeka gange, era tebakutte biragiro byange. Eby'obulimba bajjajjaabwe bye baagobereranga, bibawubisizza, kyendiva nkoleeza omuliro ku Buyudaaya, ne gwokya amayumba g'omu Yerusaalemu.” Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga batunze mu buddu abantu abatalina bukuusa, naye abatasobola kusasula mabanja, era abaavu abatasobola kusasulira wadde omugogo gw'engatto. Balinnyirira abateeyinza, ng'abalinnyirira enfuufu, ne bagoba omwavu mu kkubo. Omulenzi ne kitaawe benda ku muwala omu, bwe batyo ne boonoona erinnya lyange ettukuvu. Ku mabbali ga buli alutaari, bagalamira ku byambalo bye baggye ku baavu ng'omusingo. Mu Ssinzizo lya Katonda waabwe mwe banywera omwenge ogw'omutango gwe baggye ku bantu ababalinako amabanja. “Sso ng'olw'okulumirwa mmwe abantu bange, nasaanyizaawo ddala Abaamori nga mulaba, abantu abaali abawanvu ng'emivule, era ab'amaanyi ng'emyera. Era nabaggya mmwe mu nsi ey'e Misiri, ne mbaluŋŋamiza emyaka amakumi ana okubayisa mu ddungu, ne ndyoka mbawa ensi y'Abaamori abo ebe yammwe. Nalonda abamu ku batabani bammwe babe abalanzi, n'abamu ku bavubuka bammwe babe abawonge. Ekyo si bwe kiri, mmwe Abayisirayeli? Nze Mukama, nze njogedde. Naye mwanywesa abawonge omwenge, ne mulagira abalanzi nti: ‘Temulanga.’ Kale kaakano nja kubanyigiriza ku ttaka, mube ng'ekigaali ekyetisse ebinywa by'eŋŋaano. Embiro tezirigasa baddusi, ab'amaanyi baliggwaamu endasi, n'abazira tebalyewonya. Abalasi b'obusaale tebaliguma kuyimirirawo, abaddusi b'embiro tebalyewonya, wadde abeebagazi b'embalaasi okuwonya obulamu bwabwe. Ku lunaku olwo, wadde n'abazira abasinga obuvumu balisuula ebyokulwanyisa ne badduka.” Mukama ye ayogedde. Mmwe Abayisirayeli, muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko mmwe eggwanga lyonna lye yaggya mu nsi ey'e Misiri. Agamba nti: “Mmwe mwekka mu mawanga gonna agali ku nsi, mmwe naluŋŋamya. Kyendiva mbabonereza olw'ebibi byammwe byonna.” Ababiri bayinza okutambulira awamu nga tebamaze kukkaanya? Empologoma a ewulugumira mu kibira nga terina ky'eyizze? Empologoma ekaabira mu mpuku yaayo nga terina ky'ekutte? Ekinyonyi kikwasibwa mu mutego nga tewali kyakulya kye bakiteze? Omutego gumasuka nga tewali kigumasudde? Bafuuyira eŋŋombe z'olutalo mu kibuga abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga nga Mukama si ye akasindise? Mukama Katonda taliiko ky'akola wabula ng'amaze kukitegeezaako abaweereza be abalanzi. Empologoma bw'ewuluguma, ani atatya? Mukama Katonda bw'ayogera, ani ayinza obutalangirira bubaka bwe? Mulangirire mu mbiri z'omu Asudoodi n'ez'omu Misiri, mugambe nti: “Mukuŋŋaanire ku nsozi z'e Samariya, mulabe omuvuyo omungi n'ejjoogo ebikirimu.” Mukama agamba nti: “Abantu abo tebamanyi kukolera ku mazima: bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebinyage n'ebibbe. Omulabe kyaliva yeetooloola ensi yaabwe, n'amenya ebigo byabwe, n'anyaga eby'omu mayumba gaabwe.” Mukama agamba nti: “Ng'omusumba bw'asuuzaako amagulu abiri, oba ekitundu ky'okutu eky'endiga eriiriddwa empologoma, n'Abayisirayeli ababeera mu Samariya bwe baliwonawo abatono ku abo kaakati abagandaalira mu buliri obw'omuwendo omunene. Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna agamba nti: ‘Muwulire era mulabule bazzukulu ba Yakobo.’ Ku lunaku lwe ndibonereza eggwanga lya Yisirayeli olw'ebibi byalyo, ndisaanyaawo zaalutaari ez'e Beteli. Ensonda zaazo zonna zirimenyebwa ne zigwa wansi. Ndizikiriza amayumba, ge babeeramu mu budde obw'obutiti, n'amayumba ge babeeramu mu budde obw'ekyeya. Amayumba agatimbiddwa amasanga galisaanawo, n'amayumba amanene galizikirizibwa.” Muwulire kino, mmwe abakazi b'e Samariya, abagezze ng'ente z'e Basani, mmwe abanyigiriza abo abateeyinza, era abakamula abaavu, mmwe abagamba babbammwe nti: “Muleete omwenge tunywe.” Nga Mukama Katonda bw'ali omutuukirivu, alayidde nti: “Ennaku zijja kutuuka, lwe balibatungamu amalobo, ne babaggyawo mwenna, nga babasika ng'ebyennyanja. Balibawalula nga babayisa mu bituli ebiriraanyeewo, ebimogoddwa mu bisenge, ne babasuula mu Harumooni.” Mukama ye ayogedde. Mukama Katonda agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, mujje e Beteli mukole ebibi, mujje e Gilugaali mwongere okwonoona. Muleete ebitambiro byammwe buli nkya, n'ebitundu eby'ekkumi buli nnaku ssatu. Muweeyo ekirabo eky'emigaati egizimbulukusiddwa, gyokebwe nga mwebaza Katonda, era mulangirire ebirabo bye muwaayo nga mweyagalidde. Mubirangirire, kubanga ekyo kye musiima okukola. “Naleeta enjala mu bibuga byammwe byonna, emmere n'ebula ne mu byalo byammwe. Naye era ne mutadda gye ndi. Naziyiza enkuba okutonnya, ng'ekyabula emyezi esatu okutuuka ku makungula. Natonnyesa enkuba mu kibuga ekimu, ne ngiziyiza okutonnya mu kibuga ekirala. Yatonnya mu kitundu ekimu, ekitundu ekirala ne kikala. Ab'omu bibuga ebibiri oba ebisatu baatambulanga ne balaga mu kibuga ekirala okunywa amazzi, naye ne batasangayo gamala kuloga nnyonta. Naye era ne mutadda gye ndi. Nababonereza nga nsindika okugengewala n'obukuku mu birime byammwe. Enzige zaalya ennimiro zammwe ez'emmere n'ez'emizabbibu, n'emiti gyammwe egy'emitiini n'egy'emizayiti. Naye era ne mutadda gye ndi. “Nasindika kawumpuli mu mmwe nga gwe nasindika mu b'e Misiri. Natta abavubuka bammwe mu lutalo, embalaasi zammwe ne zinyagibwa. Najjuza ennyindo zammwe ekivundu ky'emirambo mu nsiisira zammwe. Naye era ne mutadda gye ndi. “Nazikiriza abamu mu mmwe, nga bwe nazikiriza ab'e Sodoma ne Gomora. Mmwe abaawonawo ne muba ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro. Naye era ne mutadda gye ndi. Kale mmwe Abayisirayeli, nja kubabonereza. N'olwekyo mweteeketeeke okunsisinkana.” Katonda ye yabumba ensozi, era ye yatonda embuyaga, era ye ategeeza abantu ye by'alowooza. Obudde obubadde obw'emisana ye abufuula okuba obw'ekiro. Ye atambulira ku ntikko z'ensozi. Erinnya lye ye Mukama, Katonda Nnannyinimagye. Mmwe Abayisirayeli, muwulire bino bye nnyimba okubakungubagira: “Yisirayeli omuwala embeerera agudde, taliddayo kuyimuka. Agudde wansi mu nsi ye, anaamuyimusa tewali!” Mukama Katonda agamba nti: “Ekibuga ky'omu Yisirayeli ekisindika abalwanyi olukumi, kikumi bokka be balikomawo. Ekyo ekisindika ekikumi, abalwanyi kkumi bokka be balikomawo.” Mukama agamba Abayisirayeli nti: “Mujje gye ndi, munaabanga balamu. Naye temugenda Beruseba kusinza. Temugenda Gilugaali, kubanga abaamu, ba kutwalibwa mu busibe. Temunnoonyeza Beseli, kubanga Beteli kya kuggwaawo.” Mugende eri Mukama, munaabanga balamu. Mukama aleme kubuubuuka ng'omuliro ku Bayisirayeli, ne gwokya abantu b'e Beteli, nga tewali ayinza kuguzikiza. Zibasanze mmwe, abatasala mazima, era abatali benkanya. Mukama ye yatonda emmunyeenye zi Puleyade ne Oriyoni. Ekibadde ekizikiza ye akifuula okuba omusana. N'obudde obubadde obw'emisana, ye abufuula okuba obw'ekiro. Ye ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Erinnya lye ye Mukama. Azikiriza ab'amaanyi awamu n'ebigo byabwe. Mmwe mukyawa oyo alamula obulungi mu mbuga z'amateeka, era mutamwa oyo ayogera amazima. Kale nga bwe munyigiriza abaavu, ne mubanyagako eŋŋaano yaabwe, amayumba ag'amayinja ge muzimbye, temuligabeeramu, era n'emizabbibu emirungi gye musimbye, temulinywa mwenge ogugivaamu. Mmanyi ebibi byammwe we byenkana obungi, n'emisango gye muzzizza, we gye nkana obunene. Muyigganya abatuukirivu, mulya enguzi, era mugoba emisango gy'abaavu, ne mutabasalira mazima. Omugezi kyava asirika busirisi mu biseera bino, kubanga biseera bibi. Mufube okukola ebirungi, sso si ebibi, lwe munaabanga abalamu. Olwo Mukama, Katonda Nnannyinimagye anaabanga nammwe, nga bwe mugamba nti ali nammwe. Mukyawenga ebibi, mwagalenga ebirungi. Musalenga amazima mu mbuga zammwe. Oboolyawo Mukama, Katonda Nnannyinimagye alikwatirwa ekisa Abayisirayeli abalisigalawo. Mukama, Katonda Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo, era wonna mu makubo, baligamba nti: ‘Zitusanze!’ Baliyita abalimi okukungubagira awamu n'abo abasasulibwa olw'okukungubagira abafu. Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nnimiro zonna ez'emizabbibu, kubanga njija okubabonereza mmwe.” Mukama ye ayogedde. Zibasanze mmwe abalindirira olunaku lwa Mukama. Mwagalira ki olunaku lwa Mukama? Luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala. Kiriba ng'omuntu bw'adduka empologoma, ate n'asisinkana eddubu, oba ng'omuntu bw'ayingira mu nnyumba n'akwata ku kisenge, omusota ne gumubojja. Olunaku lwa Mukama luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala, lwa kizikiza ekikutte, omutali katangaala. Mukama agamba nti: Nkyawa era nnyooma embaga zammwe, era sisanyukira nkuŋŋaana zammwe. Wadde mumpa ebitambiro byammwe ebyokebwa, oba ebirabo byammwe eby'emmere ey'empeke, sijja kubikkiriza, era sisanyukira nsolo zammwe ezassava ze mutambira. Munzigyeeko oluyoogaano lw'ennyimba zammwe, sijja kuwuliriza maloboozi ga nnanga zammwe. Naye muleke obwenkanya bukulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu bube ng'omugga ogujjula ne gubooga. “Mmwe Abayisirayeli, mwampanga ebitambiro n'ebirabo mu myaka amakumi ana, gye mwamala mu ddungu? Naye kaakano nga bwe musinzizza ebifaananyi bye mwekolera ebya Sakkuti, kabaka lubaale wammwe, n'ebya Kayiwaani, emmunyeenye lubaale wammwe, mulitwala ebifaananyi ebyo bwe ndibawaŋŋangusiza eyo, okuyisa e Damasiko.” Bw'atyo Mukama bw'agamba. Erinnya lye ye Katonda Nnannyinimagye. Zibasanze mmwe abali obulungi mu Siyooni, nammwe abatalina kye mweraliikirira ku lusozi lwa Samariya, mmwe abakungu mu ggwanga lya Yisirayeli, ekkulu mu mawanga gonna, mmwe, abantu gye bajja okunoonya obuyambi. Mugende mutunuulire ekibuga Kalune. Muve eyo mulage mu kibuga ekikulu Hamati, ate muserengete mu Gaati, ekibuga ky'Abafilistiya. Ebibuga ebyo bisinga obwakabaka bwa Buyudaaya n'obwa Yisirayeli obulungi? Oba bisinga ensi yammwe obugazi? Mugaanye okukkiriza nti olunaku olw'akabi lunaatera okutuuka, kyokka ne mukola ebirusembeza okumpi! Ziribasanga mmwe abagalamira ku bitanda eby'amasanga, ne mulya endiga ento, n'ennyana ez'omu magana gammwe. Muyimbira ku ddoboozi ery'ennanga ennyimba ez'okwegayaaza, era mweyiiyiza ebivuga nga Dawudi bwe yakola. Munywera Omwenge mu mpaawo, era mwesiiga omuzigo ogusingira ddala obulungi, naye ne mutalumirwa kuzikirira kwa Yisirayeli. Kale mmwe mulikulemberamu olunyiriri lw'abalitwalibwa mu buwaŋŋanguse. N'ebinyumu byammwe, mmwe abagayaavu, birikoma. Mukama, Katonda Nnannyinimagye alayidde nti: “Nkyawa okwekulumbaza kw'Abayisirayeli, ne ntamwa amayumba gaabwe. Kyendiva mpaayo eri omulabe ekibuga kyabwe ekikulu, ne byonna ebikirimu.” Abantu kkumi bwe balisigala mu nnyumba emu, balifa. Owooluganda lw'omufu, era ateekwa okumuziika, bw'alifulumya omulambo mu nnyumba, alibuuza oyo akyasigadde mu nnyumba nti: “Wakyaliyo omulala ali naawe?” Oli aliddamu nti: “Nedda.” Ono aligamba nti: “Sirika, tuleme wadde okwatula erinnya lya Mukama.” Mukama bw'aliragira, ennyumba ennene n'entono zirimenyebwamenyebwa. Embalaasi ziddukira ku lwazi? Abantu balimisa ente ku nnyanja? Naye mmwe, obwenkanya mubufudde butwa, n'ekituufu mukifudde kikyamu. Musanyuka olw'okuwamba ekibuga Lodebari, era mwewaana nti: “Twefunidde ekibuga Karinayimu olw'amaanyi gaffe.” Mukama Katonda Nnannyinimagye agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, nja kusindika ab'eggwanga eddala, beefuge ensi yammwe. Balibabonyaabonya mmwe, okuviira ddala mu Hamati, okutuuka ku kagga ak'e Araba.” Bino Mukama Katonda bye yandaga: nalaba ng'ateekateeka ebibinja by'enzige, nga baakamala okusala omuddo gwa kabaka, era nga gutandika okuddamu okumera. Bwe zaamala okulya buli kimera kyonna mu nsi, ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nkwegayiridde, sonyiwa! Abayisirayeli banaasobola batya okulama? Kubanga tebaliiko bwe bali!” Awo Mukama n'akyusa ekirowoozo kye, n'agamba nti: “Ekyo tekijja kutuukirira.” Bino Mukama, Katonda bye yandaga: nalaba ng'ateekateeka omuliro okubonereza abantu. Omuliro ogwo ne gukaliza obuziba bw'ennyanja, ne gutandika n'okwokya olukalu. Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, Katonda, Abayisirayeli banaayinza batya okulama? Kubanga tebaliiko bwe bali!” Awo Mukama n'akyusa ekirowoozo kye, n'agamba nti: “Era n'ekyo tekijja kutuukirira.” Bino Mukama bye yandaga: nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekisenge, ekyazimbibwa nga bapimisa omuguwa ogugera. Yali akutte omuguwa ogugera. N'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Omuguwa ogugera.” Awo Mukama n'agamba nti: “Nkozesa omuguwa ogugera, okulaga Abayisirayeli nti: bali ng'ekisenge ekitateredde. Sikyaddamu kukyusa kirowoozo kyange, nja kubabonereza. Ebifo ebigulumivu bazzukulu ba Yisaaka mwe basinziza, birizikirizibwa. Ne zaalutaari za Yisirayeli zirisaanyizibwawo. Era ab'ennyumba ya kabaka Yerobowaamu, ndibattira mu lutalo.” Awo Amaziya kabona w'e Beteli, n'atumira Yerobowaamu, kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Amosi akwekobera mu Bayisirayeli. Byonna by'ayogera, eggwanga teriyinza kubigumiikiriza, kubanga Amosi agamba nti: ‘Yerobowaamu wa kufiira mu lutalo. Era Abayisirayeli, bajja kuggyibwa mu nsi yaabwe, batwalibwe mu buwaŋŋanguse.’ ” Awo Amaziya n'agamba Amosi nti: “Ggwe omulanzi, genda, ddayo mu Buyudaaya, okolere eyo ogw'obulanzi, era eyo gy'oba ofuna emmere gy'olya. Naye toddangamu kukolera gwa bulanzi wano mu Beteli, kubanga kino kye kifo, kabaka mw'asinziza, era lye Ssinzizo ly'eggwanga.” Awo Amosi n'addamu Amaziya nti: “Saali mulanzi, wadde omugoberezi w'abalanzi, wabula nali mulunzi era nga ndabirira miti emisikamoreya. Naye Mukama yanzigya ku mulimu gwange ogw'obulunzi, n'aŋŋamba nti: ‘Genda olange eri abantu bange Abayisirayeli.’ Kale kaakano wulira Mukama ky'agamba. Oŋŋamba nti: ‘Tolanga bivumirira Bayisirayeli, toyogera bikosa bazzukulu ba Yisaaka.’ Mukama kyava agamba nti: ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga. Batabani bo ne bawala bo balittirwa mu lutalo. Ettaka lyo lirigabanibwamu ne liweebwa abalala. Naawe kennyini olifiira mu nsi ey'abatali balongoofu, era Abayisirayeli tebalirema kuggyibwa mu nsi yaabwe, ne bawaŋŋangusibwa.’ ” Bino, Mukama Katonda bye yandaga: ekibbo ky'ebibala eby'omu kyeya. Mukama n'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ekibbo ky'ebibala eby'omu kyeya.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Abantu bange Abayisirayeli banaatera okuzikirizibwa. Sijja kuddamu kukyusa kirowoozo kyange, nja kubabonereza. Ku lunaku olwo, ennyimba ez'omu Ssinzizo, zirifuuka kutema miranga. Emirambo giriba mingi. Baligisuula mu buli kifo nga basirise.” Muwulire kino, mmwe abalinnyirira bakateeyamba, era abasaanyaawo abaavu ab'omu ggwanga lino, nga mugamba nti: “Ennaku enkulu zinaggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? Ne Sabbaato eneggwaako ddi, tulyoke tuddemu okutunda? Olwo tulyoke tukendeeze ekipimo, ate twongeze emiwendo, tukumpanye nga tukozesa minzaani ezitapima kituufu. Tutunde ebisusunku by'eŋŋaano. Tulabe abaavu abatasobola kusasula mabanja, wadde okusasulira omugogo gw'engatto, tubagule bafuuke abaddu baffe.” Mukama, Katonda wa Yisirayeli alayidde nti: “Mazima siryerabira wadde ekimu ku bikolwa byabwe. Ensi erikankana olw'ekyo, era buli muntu agirimu, alinakuwala. Yonna eritabanguka n'etumbiira, era n'ekka ng'Omugga Kiyira. Ku lunaku olwo, ndiragira enjuba n'egwa mu budde obw'ettuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi emisana. Nze Mukama, Katonda, nze njogedde. Embaga zammwe, ndizifuula za kukungubaga, n'ennyimba zammwe ez'essanyu, ndizifuula kutema miranga. Ndibamwesaako enviiri zammwe, ne mwambala ebikutiya, ne muba ng'abazadde abakungubagira omwana waabwe gwe babadde balina omu yekka. Olunaku olwo lwonna lulibeera lwa bulumi. “Ekiseera kijja kutuuka, nsindike enjala mu nsi. Abantu balirumwa enjala naye nga si ya mmere. Balirumwa ennyonta, naye nga si ya mazzi, wabula nga ya kuwulira Kigambo kya Mukama. Nze Mukama, Katonda, nze njogedde. Balitambula okuva ku Nnyanja Enfu okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati, n'okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Era balidda eno n'eri, nga banoonya ekigambo kya Mukama. Naye tebalikizuula. Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyonta. Abo abalayira balubaale b'e Samariya, ne bagamba nti: ‘Lubaale w'e Daani omulamu!’ Oba nti: ‘Lubaale w'e Beruseba omulamu!’ Baligwa, ne bataddamu kuyimuka.” Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'alutaari, n'alagira nti: “Kuba emitwe gy'empagi z'essinzizo, emiryango gikankane. Era gimenye, gigwe ku mitwe gy'abantu. Abo abasigaddewo, ndibattira mu lutalo. Tewaliba n'omu ku bo adduka, wadde awonawo. Ne bwe balisima okutuuka emagombe, era ndibakwata ne mbaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu, era ndibawanulayo. Ne bwe balyekweka ku ntikko y'Olusozi Karumeeli, era ndibanoonya ne mbaggyayo. Ne bwe balinneekweka wansi mu buziba bw'ennyanja, era ndiragira ogusota gwamu ne gubabojja. Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse, era ndiragira ne battirwa eyo. Mmaliridde kubakolako kabi, sso si kubakolera birungi.” Mukama Katonda Nnannyinimagye, ye oyo akwata ku nsi n'ekankana, bonna abagiriko ne banakuwala, yonna n'etumbiira era n'ekka ng'Omugga Kiyira. Mukama yazimba ennyumba ye mu ggulu, era waggulu w'ensi n'ateekawo ebbanga. Ye ayita amazzi g'omu nnyanja, n'agayiwa ku lukalu. Erinnya lye ye Mukama. Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, ndowooza ku bantu b'e Etiyopiya, nga bwe ndowooza ku mmwe. Naggya Abafilistiya mu Kafutoori, n'Abasiriya mu Kiri, nga bwe naggya mmwe mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda, kaakano neekaliriza obwakabaka buno obwa Yisirayeli obukola ebibi, era ndibusaanyaawo ku nsi, naye sirizikiririza ddala bazzukulu ba Yakobo. “Ndiragira era ne nkuŋŋaanya Abayisirayeli mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ekuŋŋaanyizibwa mu kakuŋŋunta, okuggyamu bonna abatalina mugaso. Mu bantu bange, abo bonna aboonoonyi, era abagamba nti: ‘Akabi tekalitutuukako, wadde okutusemberera’ balifiira mu lutalo.” “Olunaku lulituuka, ne nzizaawo obwakabaka bwa Dawudi, obuli ng'ennyumba eyagwa. Ndiddaabiriza ebisenge by'ennyumba eyo, ne ngizzaawo nga bwe yali edda. Olwo Abayisirayeli baliwangula ensi ya Edomu esigaddewo era n'amawanga gonna agaabeerako agange. Mukama alikola ekyo, bw'atyo bw'agamba. “Ennaku zirituuka, obudde obw'amakungula g'eŋŋaano n'obw'okusogola emizabbibu ne butuuka, ng'obw'okusiga tebunnaggwaawo. Omwenge omuwoomu gulikulukuta okuva ku nsozi ne ku busozi bwonna. Era ndikomyawo abantu bange Abayisirayeli mu nsi yaabwe. Ebibuga byabwe ebyalekebwa awo ettayo, birizimbibwa ne babibeeramu. Balisimba emizabbibu, ne banywa omwenge gwayo. Balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu. Ndisenza abantu bange mu nsi gye nabawa, era tebaliddayo kugisengukamu.” Mukama Katonda wammwe bw'atyo bw'ayogedde. Kuno kwe kulabikirwa kwa Obadiya. Mukama atumye omubaka we eri amawanga, era tuwulidde obubaka bwe nti: “Musituke, tulumbe Edomu, tumulwanyise!” Amo 1:11-12; Mal 1:2-5 Mukama agamba Edomu nti: “Ndikufuula eggwanga etto, erinyoomebwa ennyo. Okwekulumbaza kwo kukuwubisizza. Wazimba mu lwazi olugumu, osula mu nsozi engulumivu, era weebuuza nti: ‘Alimpanulayo ye ani?’ Wadde weewanika waggulu ng'empungu, ekisu kyo ne kiba ng'ekiri mu mmunyeenye, era ndikuwanulayo ggwe! “Ababbi n'abanyazi bwe bajja ekiro, banditutteko bye baagala. N'abanoga emizabbibu, bandireseeko egimu. Naye ggwe abalabe bo bakusaanyirizzaawo ddala. Ebya bazzukulu ba Esawu nga bikwekuddwa! Ebyobugagga byabwe nga binyagiddwa! Abo abaakolagananga nammwe, babawubisizza mmwe, ne babagoba mu nsi yammwe. Be mwali nabo emirembe, kaakano babawangudde mmwe. N'abo be mwalyanga nabo, babateze mmwe omutego. Baboogerako mmwe nti: ‘Nga tebalina magezi!’ “Ku lunaku lwe ndibonereza Edomu, ndizikiriza ab'amagezi baamu, okutegeera ne kuggwaawo ku lusozi lwa Esawu. Abazira b'omu Temani balikwatibwa entiisa ku lusozi lwa Esawu, buli muntu alittibwa.” “Olw'okukambuwalira baganda bammwe bazzukulu ba Yakobo, mulizikirizibwa ne muswazibwa ennaku zonna. Ku lunaku abalabe lwe baamenya enzigi zaabwe, mwayimirira awo ku mabbali. Nammwe mwali babi ng'abagwira abo, abaanyaga ebintu mu Yerusaalemu ne babigabana. Mwali temusaanidde kusanyukira lunaku baganda bammwe ab'omu Buyudaaya lwe baatuukibwako akabi, era lwe baazikirira. Mwali temusaanidde kubasekerera nga bali mu buyinike. Mwali temusaanidde kuyingira mu kibuga kya bantu bange, okusanyuka nga babonaabona, n'okunyaga ebintu byabwe ku lunaku lwe baagwa mu kabi. Mwali temusaanidde kuyimirira mu masaŋŋanzira okukwata abo abadduka, n'okubawaayo eri abalabe ku lunaku lwe baagwibwako akabi.” “Olunaku lunaatera okutuuka, nze Mukama lwe ndisalirako amawanga gonna omusango. Ggwe Edomu, kye wakola, naawe kye balikukola. Bye wakola birikuddira. Abantu bange baanywera ku lusozi lwange olutukuvu ekikopo ekikaawa eky'okubonaabona. Naye amawanga gonna ageetooloddewo, galinywa ekikopo eky'okubonaabona ekikaawa okusingawo. Galikinywa kyonna, ne gasaanirawo ddala.” “Naye ku Lusozi Siyooni abamu baliwonawo, era luliba lutukuvu. N'ab'ennyumba ya Yakobo balyeddiza ensi yaabwe. Ab'ennyumba ya Yakobo ne Yosefu baliba ng'omuliro: balyokya ab'ennyumba ya Esawu ng'omuliro bwe gwokya ekisambu. Tewaliba n'omu ow'ennyumba ya Esawu alisigalawo nga mulamu. Nze Mukama, nze njogedde. Ensi ya Edomu erifuuka y'abo ab'omu bukiikaddyo. N'ensi y'Abafilistiya eriba y'abo ab'omu bugwanjuba. Abayisirayeli balyefuga ensi ya Efurayimu n'ey'e Samariya. Era Gileyaadi eriba ya ba Benyamiini. Ab'eggye ly'Abayisirayeli abaawaŋŋangukira mu Kanaani, balidda ne bawangula Fenikiya, okutuukira ddala e Zalefaati. N'eggye ly'abo abaava mu Yerusaalemu ne bawaŋŋangukira mu Sefaraadi, baliwamba ebibuga eby'omu bukiikaddyo obwa Buyudaaya. Abawanguzi ab'omu Yerusaalemu be balifuga Edomu, era Mukama ye aliba Kabaka.” Awo Mukama n'ayogera ne Yona, mutabani wa Amittayi, n'agamba nti: “Situka ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire nti mmanyi abantu baamu nga bwe bali aboonoonyi ennyo.” Kyokka Yona n'asituka okuddukira e Tarusiisi, ave mu maaso ga Mukama. N'aserengeta e Yoppa, n'asangayo emmeeri egenda e Tarusiisi, n'asasula ebisale, n'asaabala omwo, agende nabo e Tarusiisi, ave mu maaso ga Mukama. Naye Mukama n'akunsa omuyaga ku nnyanja, ne guba gwa maanyi nnyo, emmeeri n'eyagala okumenyeka. Abavuzi baayo ne batya, buli omu n'akoowoola lubaale we amuyambe. Ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu mmeeri, bagiwewule ku buzito. Naye Yona yali mu kisenge ekya wansi mu mmeeri, ng'agalamidde, yeebase otulo. Awo omugoba w'emmeeri n'ajja w'ali, n'amugamba nti: “Owange, obadde ki ggwe eyeebase? Golokoka, osabe lubaale wo, oboolyawo anaatusaasira, ne tutazikirira.” Awo ne bagambagana nti: “Ka tukube akalulu, tutegeere atuleetedde akabi kano.” Ne bakuba akalulu, ne kalondamu Yona. Ne bamugamba nti: “Kale tubuulire atuleetedde akabi kano. Okola mulimu ki? Ova wa? Oli wa nsi ki? Oli wa ggwanga ki?” Yona n'abagamba nti: “Ndi Mwebureeyi. Nsinza Mukama Katonda ow'omu ggulu, eyakola ennyanja n'olukalu.” Era n'ababuulira nti yali adduse, ave mu maaso ga Mukama. Ekyo bwe baakimanya, ne batya nnyo, ne bamugamba nti: “Kiki kino ky'okoze?” Ennyanja yali egenda yeeyongera okufuukuuka ennyo. Awo ne bamugamba nti: “Tukukole ki ennyanja eryoke eteeke?” Yona n'agamba nti: “Munsitule munsuule mu nnyanja, olwo ennyanja ejja kuteeka, kubanga mmanyi nga nze mbaviiriddeko okulumbibwa omuyaga guno ogw'amaanyi.” Naye bo ne bafuba nnyo okuvuga emmeeri okugoba ku ttale, kyokka ne balemwa, kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuuka, n'ebalemesa. Kyebaava bakoowoola Mukama nti: “Tukwegayiridde, ayi Mukama, totuzikiriza olw'okuggyawo obulamu bw'omuntu ono, era totuvunaana kutta muntu ataliiko musango, kubanga ggwe, ayi Mukama, ggwe oyagadde kibe bwe kityo.” Awo ne basitula Yona, ne bamusuula mu nnyanja, ennyanja n'eteeka. Ne batya nnyo Mukama, ne bamuwa ekitambiro era ne beeyama okumuweerezanga. Mukama n'asindika ekyennyanja ekinene, ne kimira Yona, Yona n'amala mu lubuto lw'ekyennyanja ennaku ssatu emisana n'ekiro. Awo Yona n'asinza Mukama, Katonda we, ng'asinziira mu lubuto lw'ekyennyanja, n'agamba nti: “Bwe nali mu buzibu, ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, n'onziramu. Nasinziira emagombe ne nkukoowoola, n'ompulira. Wansuula mu buziba wakati mu nnyanja, amazzi ne ganneetooloola, amayengo go ag'amaanyi ne gampita kungulu. Ne ŋŋamba nti: ‘Ngobeddwa mu maaso go. Ndiddayo ntya okulaba ku Ssinzizo lyo ettukuvu?’ Amazzi gansaanikira ne gaagala okunzita! Obuziba bw'ennyanja bwanneetooloola, omuddo ogw'omu nnyanja gwezingirira ku mutwe gwange. Nakka wansi ensozi we zisibuka, mu nsi, enzigi zaayo gye ziba ensibe ennaku zonna. Naye ggwe, ayi Mukama Katonda wange, n'onzigya mu bunnya nga ndi mulamu. Bwe nawulira ng'obulamu bunzigwamu ne nzijukira okukusaba, ayi Mukama, n'owulira kye nkusaba, ng'oli mu Ssinzizo lyo ettukuvu. Abo abeemalira ku by'obulimba ebitaliimu nsa, beggya ku ggwe eyandibasaasidde. Naye nze nja kukuwa ekitambiro nga bwe nkutendereza. Era nja kutuukiriza bye nasuubiza. Mukama ye alokola.” Awo Mukama n'alagira ekyennyanja, ne kisesema Yona ku lukalu. Awo Mukama n'ayogera ne Yona omulundi ogwokubiri, n'agamba nti: “Situka ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire obubaka bwe nkuwa.” Awo Yona n'asituka, n'alaga e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Nineeve kyali kibuga kinene nnyo, nga kya lugendo lwa nnaku ssatu okutambula okukiyitamu. Yona n'atandika okuyita mu kibuga. Bwe yatambulako olugendo lwa lunaku lumu, n'alangirira nti: “Esigadde ennaku amakumi ana, Nineeve kizikirire!” Abantu b'e Nineeve ne bakkiriza obubaka bwa Katonda ne balangirira okusiiba. Ne bambala ebikutiya, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto. Kabaka w'e Nineeve bwe yabiwulira, n'asituka ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'ayambulamu ekyambalo kye, n'ayambala ekikutiya, n'atuula mu vvu. N'aweereza ekirangiriro wonna mu Nineeve nti: “Kino kye kiragiro kya kabaka n'abakungu be: tewaba n'omu abaako k'alya wadde k'anywa, k'abe muntu, oba ente, oba endiga, wadde ensolo endala yonna. Abantu bambale ebikutiya, beegayirire nnyo Katonda. Buli omu alekeyo empisa ze embi, n'ebikolwa bye ebibi. Oboolyawo Katonda anaakyusa ekirowoozo kye, n'alekayo obusungu bwe obukambwe, ne tutazikirira.” Katonda n'alaba bye bakoze, era nga bwe baleseeyo empisa zaabwe embi, n'akyusa ekirowoozo kye, n'atababonereza, nga bwe yali agambye okubabonereza. Naye Yona n'atasiima n'akatono, n'asunguwala. Ne yeegayirira Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama, saayogera nga nkyali mu nsi y'ewaffe nti ekyo kyennyini ky'olikola? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Tarusiisi, kubanga namanya ng'oli Katonda wa kisa, era omusaasizi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi era eyeetegese bulijjo okukyusa ekirowoozo kyo, n'otobonereza. Kale kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, ndeka nfe, kubanga kirungi nfe okusinga okuba omulamu.” Mukama n'addamu nti: “Ggwe olowooza nti oli mutuufu okusunguwala?” Awo Yona n'afuluma ekibuga, n'atuula ku ludda lwakyo olw'ebuvanjuba, ne yeekolera eyo ekisiisira, n'atuula mu kisiikirize kyakyo, n'alinda okulaba ebinaatuuka ku kibuga Nineeve. Awo Mukama Katonda n'ameza ekimera, n'akirandiza waggulu w'ekifo Yona we yali, kimuwe ekisiikirize, kimusanyuse. Yona n'asanyuka nnyo olw'ekimera ekyo. Naye obudde bwe bwakya enkya, Katonda n'asindika ekiwuka, ne kiruma ekimera ekyo, ekimera ne kiwotoka. Enjuba bwe yavaayo, Katonda n'asindika embuyaga ey'omu buvanjuba, ey'ebbugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe, n'abulako katono okuzirika. Ne yeesabira afe, n'agamba nti: “Kirungi nfe, okusinga okuba omulamu!” Katonda n'agamba Yona nti: “Ggwe olowooza nti oli mutuufu okusunguwala olw'ekimera?” Yona n'addamu nti “Kituufu nze okusunguwala, era obusungu bwagala kunzita!” Mukama n'agamba nti: “Olumirwa ekimera ky'ototeganidde, era ky'otaalandiza, ekyameze mu kiro ekimu, ne kifa mu kiro ekiddiridde. Kale nze sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekinene, omuli abaana abato abasoba mu mitwalo ekkumi n'ebiri, abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, era omuli n'ensolo ennyingi?” Mu mirembe gya Yotamu ne Ahazi ne Heezeekiya, bassekabaka ba Buyudaaya, Mukama yawa Mikka ow'omu kibuga ky'e Moreseti obubaka buno, obufa ku Samariya ne ku Yerusaalemu. 28:1–32:33 Muwulire kino mmwe abali mu mawanga gonna. Ggwe ensi ne byonna ebikuliko, mutege amatu, Mukama aliva mu kifo kye ekitukuvu, n'akka, n'atambulira ku ntikko z'ensozi. Ensozi zirisaanuukira wansi we, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro. Zirikuluggukira mu biwonvu, ng'amazzi agava ku kasozi. Ebyo byonna biribaawo, kubanga Abayisirayeli bakoze ebibi, ne bajeemera Katonda. Ani avunaanibwa olw'ebibi bya Yisirayeli? Si Samariya ekibuga kyayo ekikulu? Ani avunaanibwa olw'ekibi kya Buyudaaya? Si Yerusaalemu? Kale Mukama agamba nti: “Ndifuula Samariya ekigulumu mu ttale, ekifo eky'okusimbamu emizabbibu. Ndisuula amayinja gaakyo mu kiwonvu, era ndisendawo emisingi gyakyo. Ebifaananyi byonna bye kisinza, birimenyebwamenyebwa ne bizikirizibwa; era ebintu byonna bye kyafuna, birisaanyizibwawo omuliro. Kubanga kyabifuna okuva mu mpeera eweebwa bamalaaya baakyo. Kale biritwalibwa okukozesebwa awalala ng'empeera eweebwa bamalaaya.” Awo Mikka n'agamba nti: “Olw'ekyo nditema emiranga, ne nkuba ebiwoobe! Ndyeyambulamu engoye n'engatto, ne ntambula nga ndi bwereere. Ndiwowoggana ng'ebibe, ne nkaaba nga mmaaya, kubanga ebiwundu bya Samariya, tebiyinza kuwonyezebwa. Ate ne Buyudaaya anaatera okubonaabona mu ngeri ye emu. Okubonaabona kutuuse ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemu, omuli abantu bange!” Okubonaabona kwaffe temukubuulirako balabe baffe ab'omu Gaati. Temukaaba maziga n'akatono. Mmwe ab'e Beeti Leyafura, mwekulukuunye mu nfuufu! Mmwe ab'omu Safiri, mukwate ekkubo mugende mu buwaŋŋanguse nga temwambadde era nga muswadde. Mmwe abatuuze b'omu Zaanani, muleme kuva mu kibuga kyammwe. Bwe muliwulira ebiwoobe mu Betezeeli, mulimanya nti eyo teriiyo buddukiro. Abatuuze b'e Maroti beeraliikiridde, nga balindirira obuyambi, kubanga Mukama aleese akabi akatuuse okumpi ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemu. Mmwe abatuuze b'e Lakisi, musibe embalaasi ku magaali: mwakoppa ebibi bya Yisirayeli ne muleetera Yerusaalemu okwonoona. Kale musiibule ekibuga ky'e Moreseti Gaati. Bakabaka ba Yisirayeli tebalifuna buyambi mu kibuga ky'e Akuzibu. Mmwe abatuuze b'e Maresa, Mukama alibawaayo eri abalabe, abaliwamba ekibuga kyammwe. Abeekitiibwa mu Yisirayeli baligenda ne beekweka mu mpuku y'e Adullamu. Mwemweko enviiri okukungubagira abaana bammwe ababasanyusa. Mwefuule ba biwalaata ng'ensega, kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne bawaŋŋangusibwa. Ziribasanga abo abagalamira ku bitanda byabwe, ne bakeesa obudde nga bateesa okukola ebibi, era ne babikola ng'obudde bukedde, kubanga basobola okubikola. Bwe beegomba ennimiro, ezo nga bazinyaga; ka zibeere nnyumba nazo nga batwala. Tebatya na nnyinimu, wadde bye yasikira. Mukama kyava agamba nti: “Ntegeka okubakolako mmwe akabi ke mutaliyinza kwewonya. Muliba temukyatambula nga mweyagala, kubanga ebiseera ebyo biriba bibi. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, balibafuula mmwe olugero olw'abo abatuukibwako akabi, era balibayeeya mu luyimba olw'okukungubaga nti: ‘Tunyagiddwako buli kintu, Mukama atuggyeeko ensi yaffe n'agigabira abajeemu.’ ” Kale ekiseera bwe kirituuka ensi eddizibwe abantu ba Mukama, mmwe tewaliba abapimira mugabo. Waliwo abalangirira nga bagamba nti: “Totulagula! Omuntu tasaana kulanga ebyo! Tetugenda kuswazibwa. Aba Yakobo bayinza okukolimirwa? Mukama takyagumiikiriza? Ayinza okukola ebiri ng'ebyo? Ebigambo bye tebisanyusa abo abakolera ku mazima?” Mukama n'addamu nti: “Naye abantu bange, mufuuse ng'abalabe. Abo abatayagala kulwana, mubanyagako ebyambalo byabwe nga babayitako awatali kye beeraliikirira. Abakazi b'abantu bange mubagoba mu maka gaabwe agabasanyusa. Abaana baabwe abato ekitiibwa kye nabawa, mukibaggyako ennaku zonna. Musituke mugende, kubanga wano tewakyaliwo kiwummulo. Ebibi byammwe bizikirizza ekifo kino. Abantu bano gwe baagala, ye mulanzi abalimba ng'agamba nti: ‘Nnanga nti mulifuna omwenge n'ebyokunywa ebirala ebitamiiza.’ Naye ndibakuŋŋaanya mmwe mwenna Abayisirayeli abalisigalawo, ne mbaleeta wamu ng'endiga ezikomyewo mu kisibo. Ensi yammwe erijjula abantu ng'eddundiro erijjudde endiga. Balireekaana olw'obungi bwabwe” Abatemera ekkubo alibakulemberamu. Balimenya oluggi olwa wankaaki ne bayitawo. Kabaka waabwe, Mukama yennyini, alibakulemberamu. Awo ne ŋŋamba nti: “Muwulire mmwe abafuzi ba Yisirayeli! Si mmwe mwandibadde mumanya obwenkanya? Naye mukyawa ebirungi, ne mwagala ebibi. Mubaagako abantu bange eddiba, ne mubaggyako ennyama ku magumba! Mulya abantu bange! Mubabaagako eddiba, ne mumenyaamenya amagumba gaabwe, ne mubasalaasala ng'ennyama ey'okufumba mu ntamu! Ekiseera kirituuka ne mukaabirira Mukama, kyokka talibaddamu. Taliwuliriza kusaba kwammwe, kubanga mwakola ebikolwa bibi.” Abalanzi bawubisa abantu bange nga basuubiza emirembe eri buli abawa ekyokulya, ne balangirira olutalo ku abo abatabawadde mmere. Abalanzi abo Mukama abagamba nti: “Olw'ekyo balanzi mmwe, enjuba eneetera okugwa nga mutunula, obudde obw'emisana bubaddugalire, mulyoke mubeere mu kiro nga temukyalabikirwa; mube mu kizikiza nga temukyalanga.” Abalanzi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala. Bonna balibikka ku mimwa gyabwe, kubanga Katonda talibaanukula. Naye nze, Mukama anzijuza omwoyo gwe era n'amaanyi, n'amazima era n'obuvumu, okutegeeza Abayisirayeli ebibi byabwe nga bwe biri. Muntegere amatu mmwe abakulira ennyumba ya Yakobo, abafuzi ba Yisirayeli, mmwe abakyawa amazima, ekirungi ne mukifuula ekibi! Mmwe abazimba Siyooni ku musingi ogw'obutemu, Yerusaalemu ku bwonoonyi. Abakulu baakyo balamula lwa nguzi. Bakabona bayigiriza, n'abalanzi mu kyo balanga bafune ensimbi. Ng'olwo beeyinula Mukama nga bagamba nti: “Mukama tali wakati mu ffe? Tetulituukibwako kabi!” Kale olw'okubeera mmwe Olusozi Siyooni lulirimibwa ng'ennimiro. Ekibuga Yerusaalemu kirifuuka ntuumu ya bisasiro. Akasozi okuli Essinzizo kalimerako ekibira. Mu biseera ebirijja olusozi okuli Essinzizo lwe luliba lusinga zonna obugulumivu. Lulitumbiira okuyisa obusozi bwonna. Ab'omu mawanga mangi balijja nga bakuluggukira ku lwo. Era baligamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, ku Ssinzizo lya Katonda wa Yisirayeli. Alituyigiriza by'ayagala tukole, tulitambulira mu makubo g'atulaga. Kubanga mu Siyooni mwe muva ebyo Mukama by'alagira. Asinziira mu Yerusaalemu okwogera n'abantu be.” Aliramula amawanga ag'amaanyi, agali okumpi n'agali ewala. Ebitala byabwe balibiweesaamu enkumbi, n'amafumu gaabwe baligaweesaamu ebiwabyo. Amawanga tegaalwanaganenga, era tewaabenga nate kutendekebwa mu bya ntalo. Buli muntu anaabeeranga mu mizabbibu gye ne mu mitiini gye, nga tewali amutiisa. Mukama ow'obuyinza ye ayogedde. Abantu aba buli ggwanga bakolera ku biragiro bya balubaale baabwe. Naye ffe tunaakoleranga ku biragiro bya Mukama, Katonda waffe ennaku zonna. Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ne nkuŋŋaanya wamu abawenyera, ne nkomyawo abo abaagobwa n'abo be nabonereza. Abawenyera ndibafuula bakaawonawo, n'abaali bagobeddwa ne babeera ewala n'ewaabwe, ndibafuula eggwanga ery'amaanyi. Okuva olwo nnaabafugiranga ku Lusozi Siyooni emirembe gyonna.” Naawe Yerusaalemu, omunaala okusinziirwa okulabirira eggwanga, ng'omusumba bw'alabirira eggana lye, oliddamu okuba ekibuga ekikulu eky'obwakabaka nga bwe wali edda. Kale okaabira ki ennyo n'obalagalwa bw'otyo ng'omukazi alumwa okuzaala? Lwa kuba nti tolina kabaka, wadde omuntu akuwa amagezi? Mulumwe nnyo musinde ng'omukazi alumwa okuzaala, mmwe abantu b'omu Siyooni, kubanga kaakano mujja kuva mu kibuga, musiisire ku ttale. Era muligenda e Babilooni. Naye eyo Mukama gy'alibanunulira mu balabe bammwe. Kaakano ab'omu mawanga mangi bakuŋŋaanye okubalwanyisa mmwe, nga bagamba nti: “Yerusaalemu kyonoonebwe! Twagala tulabe nga kizikiridde!” Naye ab'omu mawanga ago tebamanyi Mukama by'alowooza. Tebamanyi ng'abakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano, abakubire mu gguuliro. Mukama agamba nti: “Mmwe ab'omu Yerusaalemu, mugende mubonereze abalabe bammwe. Ndibafuula ba maanyi mmwe, ng'ente eya sseddume erina amayembe ag'ekyuma, n'ebinuulo eby'ekikomo. Mulibetenta amawanga mangi, ebyobugagga byabwe ne mubiwongera Nze Mukama, Mukama w'ensi zonna.” Abantu b'omu Yerusaalemu, mukuŋŋaanye eggye lyammwe. Batuzingizizza ffe! Balumbye omufuzi wa Yisirayeli! Mukama agamba nti: “Ggwe Betilehemu Efurata, akamu ku bubuga obusingayo obutono mu Buyudaaya, mu ggwe mwe ndiggya omufuzi wa Yisirayeli, asibuka mu lunyiriri olw'emirembe egy'edda ennyo.” Mukama kyaliva abawaayo okutuusa oyo alumwa okuzaala lw'alizaala. Olwo abantu b'ensi ye abaliba basigaddewo ne bakomawo eri Bayisirayeli bannaabwe. Oyo bw'alijja, alifuga abantu be mu buyinza bwa Mukama n'obukulu bw'erinnya lya Mukama, Katonda we. Abantu be balibeera mu ddembe, kubanga aliba mukulu mu nsi yonna, era alireeta emirembe. Abassiriya bwe balizinda ensi yaffe, ne basaatuukira mu nnyumba zaffe, tulisindika abakulembeze baffe musanvu n'abakungu baffe munaana, ne babalwanyisa. Balirwana olutalo ne bawangula Assiriya, ensi ya Nimuroodi. Alituwonya Abassiriya, abaliba babuuse ensalo zaffe, ne bayingira ensi yaffe. Abayisirayeli abaliwonawo, baliba wakati mu mawanga amangi ng'omusulo oguva eri Mukama, era ng'enkuba etonnya ku bimera ebirabirirwa Mukama, ebitalabirirwa bantu. Abayisirayeli abaliwonawo baliba wakati mu mawanga amangi ng'empologoma eri wakati mu nsolo ez'omu ttale, oba mu magana g'endiga: z'egwamu n'ezitaagulataagula, ne wataba ayinza kuziwonya. Muliwangula abalabe bammwe era mulibazikiriza bonna. Mukama agamba nti: “Mu kiseera ekyo, ndibaggyako embalaasi zammwe, era ndisanyaawo amagaali gammwe. Ndizikiriza ebibuga ebiri mu nsi yammwe, era ndimenya ebigo byammwe byonna. Ndizikiriza eby'obulogo byammwe, temuliddayo kuba na balaguzi. Ndiggyawo ebifaananyi byammwe, n'empagi zammwe, ebyo mmwe mmwennyini bye mwekolera, temuliddayo kubisinza. Era ndisimbula mu nsi yammwe ebifaananyi bya lubaale Asera, era ndizikiriza ebibuga byammwe. Mu busungu n'ekiruyi ndiwoolera eggwanga ku mawanga agatampulira.” Kale muwulire ebyo Mukama by'agamba nti: “Situka oyombe mu maaso g'ensozi, n'obusozi buwulire ky'ogamba.” “Mmwe emisingi gy'ensi egy'olubeerera, muwulire okwemulugunya kwa Mukama, kubanga Mukama yeemulugunyiza abantu be. Ajja kulumiriza Yisirayeli.” Mukama agamba nti: “Mmwe abantu bange, kiki kye mbakoze? Kiki kye mbakaluubiriddemu? Munziremu. Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbanunula mu buddu. Natuma Musa ne Arooni ne Miriyamu okubakulembera. Naye bantu bange, mujjukire ebyo Balaki, kabaka wa Mowaabu bye yateesa okubakolako, n'ebyo Balamu mutabani wa Bewori bye yamuddamu. Mujjukire ebyabaawo nga muva e Sittimu okutuuka e Gilugaali, mulyoke mumanye bye nkola okubalokola.” Kiki kye nnaaleetera Mukama, Katonda ow'omu ggulu nga nzija okuvuunama mu maaso ge? Nnaamuleetera nnyana ezaakamala omwaka ogumu, nziweeyo zibe ekitambiro ekyokebwa? Mukama anaasiima endiga za sseddume enkumi n'enkumi, oba omuzigo ogukulukuta ng'emigga? Omwana wange omuggulanda gwe mba mpaayo olw'ebibi byange? Mukama atubuulidde ekirungi ky'ayagala. Mukama tatwagaza kirala wabula okukolanga ebituufu, n'okubanga ab'ekisa era n'okumusinzanga Katonda waffe nga tuli beetoowaze. Kya magezi okutya Mukama. Mukama akoowoola ekibuga nti: “Muwulire mmwe abakuŋŋaanira mu kibuga! Mu mayumba g'ababi mulimu ebyobugagga bye baafuna mu bukumpanya. Bakozesa ebipimo ebitali bituufu bye nvumirira. Nnyinza ntya okusonyiwa abantu abakozesa minzaani n'ebipimo ebirala ebitali bituufu? Kubanga abagagga mu mmwe banyigiriza abaavu, era mwenna muli balimba. N'olwekyo ntandise okubabonereza n'okubazikiriza olw'ebibi byammwe. Mulirya, naye temulikkuta. Mulisigala nga mukyalumwa enjala. Mulifiirwa bye mwatereka, ne bye muliwonyaawo ndibizikiririza mu lutalo. Mulisiga, naye temulikungula. Mulisogola emizayiti ne muggyamu omuzigo, naye temuligukozesa. Mulisogola omwenge, naye temuligunywako. Kubanga mugoberedde empisa embi eza Omuri n'ebikolwa eby'ab'ennyumba ya Ahabu, era mukoledde ku magezi gaabwe. Kale mmwe abantu bange ndibazikiriza. Mulinyoomebwa abantu bonna, era mulivumibwa buli wantu.” Nga zinsanze nze! Ndi ng'omuyala atasanga kibala kisigadde ku muti, wadde ekirimba kisigadde ku muzabbibu. Ebirimba by'emizabbibu byonna n'emitiini gye njagala egisooka okwengera, binogeddwa, tekukyali kya kulya. Tewakyali mwesigwa mu nsi, tewakyali muntu mwesimbu. Buli muntu ateesa atemule, buli omu atega munne ekitimba. Bonna bamanyirivu mu kukola ebibi. Abafuzi n'abalamuzi baagala kulya nguzi. Omukungu bw'ababuulira ku kibi ky'ateesa okukola, nga nabo bateesa wamu naye. N'abo abasinga obulungi bo bali nga katazzamiti; abo abasingamu obwesimbu bali ng'olukomera lw'amaggwa. Kaakano ekiseera kituuse babonerezebwe nga bwe baalabulibwa abalanzi baabwe. Kaakano basobeddwa. Temwesiga muliraanwa wammwe, wadde ow'omukwano. Mwegendereze bye mwogera ne bwe muba nga mwogera ne bakazi bammwe. Kubanga omwana ow'obulenzi anyooma kitaawe, ow'obuwala akikinala ku nnyina. Muka mwana ayombesa nnyazaala we. Abalabe b'omuntu baba ba mu nnyumba ye. Naye nze nnaatunuuliranga Mukama, nnaalindiriranga Katonda andokole. Katonda wange anampuliranga. Ggwe omulabe wange osanyukira bwereere nga nfunye ebizibu. Ne bwe ngwa, nnaayimuka. Ne bwe tuba mu kizikiza, Mukama anampa ekitangaala. Nnaagumikiriza obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde. Oluvannyuma alinnwanirira, n'asalawo nti nze mutuufu. Alindeeta mu kitangaala, ne ndaba nga bw'ali omwenkanya. Olwo nno omulabe wange eyaŋŋambanga nti: “Mukama Katonda wo ali ludda wa?” Aliraba ekyo n'aswala. Ndisanyuka okulaba bw'alinnyirirwa ng'ebitoomi eby'omu nguudo. Ggwe Yerusaalemu, ekiseera eky'okuzimba ebisenge byo, kijja. Mu kiseera ekyo, ensalo zo zirigayizibwa. Abantu bo balidda gy'oli, nga bava mu Assiriya ne mu bibuga bya Misiri, mu bitundu by'Omugga Ewufuraate, ne ku nnyanja, ne ku nsozi ez'ewala. Naye ensi erifuuka ddungu olw'ebikolwa ebibi eby'abo abagibeeramu. Mukama, abantu bo be weeroboza, balabirire ng'omusumba bw'alabirira endiga ze. Bali bokka mu kibira, nga beetooloddwa ensi engimu. Baleke baliirenga mu Basani ne mu Gileyaadi nga mu biseera eby'edda. Mukama agamba nti: “Ndiraga abantu ebyamagero, nga bwe nakola nga muva mu nsi ey'e Misiri.” Ab'omu mawanga baliraba bino, ne batekemuka, newaakubadde nga ba maanyi. Balikwata ku mimwa, era baliziba amatu gaabwe nga beewuunya. Balyewalula mu nfuufu ng'emisota, ne bava gye beekwese, ne bajja eri Mukama, Katonda waffe, nga batidde nga bakankana. Teri Katonda mulala ali nga ggwe, ayi Mukama asonyiwa ebibi by'abantu bo abawonyeewo. Tolemera mu busungu bwo ennaku zonna, naye osanyuka okukwatirwa ekisa. Oliddamu okutusaasira. Olirinnyirira ebibi byaffe, n'obisuula mu buziba bw'ennyanja. Oliraga obwesigwa n'ekisa abantu bo, bazzukulu ba Aburahamu ne Yakobo nga bwe walayirira bajjajjaffe okuva edda n'edda. Buno bwe bubaka obufa ku Nineeve, kye kitabo omuli okulabikirwa kwa Nahumu ow'e Elukoosi. Mukama Katonda takkiriza kuvuganyizibwa. Mukama awoolera eggwanga, era wa busungu nnyo. Abonereza abo abamukyawa, era asibira abalabe be ekiruyi. Mukama alwawo okusunguwala, era alina obuyinza bungi. Buli azzizza omusango tamuleka: amubonereza. Ekkubo mw'atambulira, liri mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ye nfuufu ebigere bye gye bisitula. Alagira ennyanja n'ekalira, era emigga gyonna agikaza. Ettale ly'e Basani n'ery'oku Lusozi Karumeeli libabuse. Ebimuli by'oku Lebanooni biwotose. Ensozi zikankanira w'ali, obusozi ne busaanuuka. Ettaka likka bw'alabika. Ensi yonna yeekaaka, n'abagiriko ne batekemuka. Bw'asunguwala, ani ayinza okubeerawo? Ani ayinza okugumira obusungu bwe obuswakidde? Bwe bubuubuuka ng'omuliro, enjazi zaatikira w'ali. Mukama mulungi: akuuma abantu be mu biseera ebizibu. Alabirira abamwesiga. Abamukyawa alibasaanyizaawo ddala n'omujjuzo gw'amazzi, era abalabe be alibasindika emagombe. Kiki kye muteesa okukola ku Mukama? Ajja kubasaanyaawo! Tewali amwesimbamu mulundi mulala! Wadde bali ng'amaggwa agakwataganye, era ng'abanywi b'omwenge abatamidde, alibookya n'abasaanyaawo ng'ebisambu ebikaze. Mu ggwe Nineeve, mwavaamu alina endowooza embi, ateesa okukola akabi ku Mukama. Kino Mukama ky'agamba abantu be Abayisirayeli nti: “Wadde Abassiriya bangi era nga ba maanyi, banaazikirira baggweewo. Newaakubadde nababonyaabonya mmwe, naye sikyababonyaabonya nate. Kaakano nja kumenya ekikoligo kya Assiriya ekibanyigiriza, era nkutule enjegere ze ezibasibye.” Kino Mukama ky'alagidde ekifa ku mmwe Abassiriya: “Temulifuna bazzukulu balituumibwa mannya gammwe. Ndizikiriza ebifaananyi ebyole era n'ebisaanuuse ebiri mu masabo ga balubaale bammwe. Ndibasimira entaana kuba temusaanira kuba balamu.” Mulabe omubaka ali ku nsozi ajja, aleeta amawulire amalungi, era alangirira emirembe! Mmwe abantu b'omu Buyudaaya, mukuume ennaku zammwe enkulu. Bye mweyama mubituukirize, kubanga ababi tebakyaddamu kubalumba mmwe. Bazikiririziddwa ddala. Nineeve, olumbiddwa, anaakumulungula atuuse! Kuuma ekigo kyo, labirira oluguudo! Weesibe wenyweze, funvubira n'amaanyi go gonna! Mukama anaatera okuzzaawo ekitiibwa kya Yakobo: kye kitiibwa ky'Abayisirayeli. Abanyazi bajja ne baaya emizabbibu gyabwe, ne bamenya amatabi gaagyo. Abasajja be abazira bakutte engabo emmyufu: Abalwanyi be bambadde ebyambalo ebitwakaavu. Amagaali gaabwe gaakaayakana ng'omuliro. Embalaasi z'olutalo ziri bulindaala. Amagaali gabunye ekibuga geetawulira mu nguudo. Gaakaayakana ng'emimuli, gatemagana ng'ebimyanso. Abakungu bayitibwa, ne batambula nga bagwa. Abalumbi banguwako okutuuka ku kigo, bategeka okukiggunda. Enzigi ez'oku ludda lw'omugga ziggulibwawo, olubiri ne lujjula entiisa! Nnaabakyala n'anyagibwa, n'atwalibwa nga musibe. Abazaana be bakaaba ng'amayiba, nga bwe beekuba mu bifuba, olw'okunakuwala. Abantu badduka okuva mu Nineeve ng'amazzi agava mu kidiba ekyabise. Bwe babakoowoola nti: “Muyimirire, muyimirire!” Tewali atunula mabega. Munyage ffeeza, munyage zaabu! Ebyobugagga tebiriiko kkomo! Ekibuga kijjudde ebintu: buli kirungi kiri omwo! Nineeve kyabuliddwa, ebyamu binyagiddwa, kisigalidde awo! Tewali alaga buzira, amaviivi gabakubagana; n'ebiwato bibakankana era abantu bonna amaaso gabapeeruuse olw'entiisa! Ekibuga kiri ludda wa ekyali kitiibwa ng'empuku y'empologoma, empologoma ento mwe zaaliiranga, era mwe zaasigalanga awatali azitiisa, ng'empologoma enkulu ensajja n'enkazi zitambudde? Empologoma ensajja buli kye yattanga n'ekitaagula obulere, n'ekireetera ento ezo, era n'enkazi zaayo. N'ejjuza empuku yaayo, ensolo ezitaaguddwa! Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndikubonereza ggwe! Ndyokya amagaali go ne ganyooka omukka, era abaserikale bo balittirwa mu lutalo. Nditwala byonna bye wanyaga. Eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.” Zikisanze ekibuga ekitemu, ekijjudde obulimba, era ekikubyeko ebinyage! Obunyazi bwakyo tebukoma! Wulira enkoba ezivuga, ezikuba embalaasi ze bagoba, nga zigenda ziguluba! Wulira nnamuziga ezeewagala, n'amagaali agakubagana! Abeebagadde embalaasi bataze okulwana ng'ebitala bimasamasa, nga n'amafumu gamyansa! Abafudde be bangi, emirambo butabala, giri mu ntuumu na ntuumu, abadduka kwe beekoona! Ebyo byonna byasibuka ku bwenzi bwa Nineeve malaaya asikiriza ennyo, eyaloga emitima gy'abantu, n'afuga amawanga olw'obwenzi bwe. Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndikubonereza ggwe Nineeve, ndikwambula osigale bwereere amawanga gakulabe gakusunge. Ndikusuulako ebyenyinyalwa era ne nkunyoomoola. Ndikufuula kyerolerwa eri buli akutunulako. Abakutunulako bonna balikudduka nga bagamba nti: ‘Mazima Nineeve kifuuse matongo! Anaakikaabira anaava wa? Tunaazuula wa akikubagiza?’ ” Nineeve ggwe mulungi okusinga Nowamoni ekibuga ky'e Misiri? Kyali kumpi n'Omugga Kiyira, nga kyetooloddwa amazzi ku njuyi zonna. Kyali kikomeddwa na nnyanja, ng'amazzi kye kigo kyakyo! Amaanyi gaakyo gaakiri mu Etiyopiya ne Misiri. Ab'e Puuti n'ab'e Libiya nabo baakiyambanga. Wabula era kyanyagibwa: abantu baamu ne bawaŋŋangusibwa. Abaana baamu abato ne batirimbulwa mu buli masaŋŋanzira gaakyo. Abeekitiibwa mu kyo n'abakulembeze baakyo baasibibwa ku njegere, ne bagabanibwa abalabe nga bakubirwa akalulu! Naawe Nineeve olitaga ng'omutamiivu, oliggwaamu amaanyi. Naawe olinoonya we weewogoma abalabe. Ebigo byo byonna biriba ng'emiti emitiini okuli ebibala ebisooka okwengera. Emiti egyo bwe ginyeenyezebwa, ebibala bikunkumuka, ababyagala ne balya. Laba abaserikale bo bali ng'abakazi: tewali bataasa nsi yo, kugigobako balabe! Omuliro gusaanyaawo emikiikiro gy'enzigi zo. Weekimire amazzi, weetegekere okuzingizibwa. Nyweza ebigo byo. Samba ebbumba obumbe amatoffaali, ogapange mu kyokero. Wabula ne bw'onookola ki, tewali kinaakugasa! Ojja kwokebwa omuliro, bakuttire mu lutalo wenna bakusaanyeewo, ng'ebirime mu nnimiro enzige bye zisaanyaawo. Wazaala nnyo ng'enzige! Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye mu bungi. Naye kati babuuse ng'enzige ne bagenda. Abakulembeze mu ggwe bali ng'enseenene, n'abaduumira eggye lyo bali ng'ebibinja by'enzige ezeekukuma mu nkomera ng'obudde bunnyogovu. Naye enjuba bw'evaayo zibuuka ne zigenda, tewali amanya lye zikutte. Ggwe Kabaka w'Assiriya, abasumba bo nno bafudde! Abakungu bo bagaŋŋalamye. Abantu bo basaasaanidde mu nsozi, tewaliiwo abakuŋŋaanya! Tewali kinaaweeza ku bulumi bw'owulira, ekiwundu kyo si kya kuwona. Bonna abawulira bw'owanguddwa, bakuba mu ngalo nga basanyuka, kubanga obukambwe bwo obutaaliko kkomo tewali gwe bwataliza. Buno bwe bubaka omulanzi Habakuuku bwe yafuna mu kulabikirwa. Ayi Mukama, ndituusa wa okukuyita nga towulira? Nkukaabirira nti: “Tulokole otuwonye obukambwe bw'abantu!” Wabula ggwe n'osirika! Ondekera ki okulaba ebitali bya bwenkanya, n'otunula obutunuzi ng'ebikyamu bikolebwa? Kubanga obunyazi n'obukambwe bye ndaba buli we ntunula. Amateeka kyegavudde gaddirira, ne wataba kugoba nsonga, kubanga ababi be bakajjala kati ku batuukirivu! Kwe kulaba n'amazima nga ddala gasuuliddwa! Mukama n'agamba abantu be nti: “Mutunuleeko mu mawanga mulabe, muneewuunya ne musamaalirira! Kubanga mu mirembe gyammwe gino nja kubaako kye nkolawo, kye mutayinza kukkiriza singa bababuulidde. Kale mulabe, nkulaakulanya Abakaludaaya, abantu abakambwe abo abatatuula kukkalira: abagenda batalaaga ensi okunyaga ebintu by'abalala. Baakitiibwa ba ntiisa, beemala era beeramula! “Embalaasi zaabwe zidduka okusinga engo! Mu bukambwe zikirako emisege egy'akawungeezi. Abeebagazi baazo abeeyagazi bakka ng'empungu eyanguyira ky'eneerya! Bonna kye bajjirira, kukola bya bukambwe. We baba basembedde buli muntu ajjula entiisa! Abanyage be bakuŋŋaanya, bayitirira obungi ng'obuweke bw'omusenyu! Banyooma bakabaka, ne basekerera abakungu. Tewali kigo kye batya: bakitindirako ettaka olwo ne bakiwamba! Ne bafuumuuka ng'embuyaga ne babulawo! Bantu boonoonyi, amaanyi gaabwe ye Lubaale waabwe!” Ayi Mukama Katonda wange, eyabeerawo okuva edda n'edda, oli mutuukirivu, era wa mirembe na mirembe. Ayi Mukama Katonda wange, walonda Abakaludaaya n'obafuula ba maanyi, balyoke batubonereze. Oli mutuukirivu nnyo atasaanye kutunuulira bibi, era atayinza kugumiikiriza bakola bikyamu. Kale lwaki osirika ng'ababi bamalawo abo ababasinga okuba abatuukirivu? Abantu obayisa nga byannyanja oba ng'ebyewalula, ebitalina abirabirira? Abakaludaaya abo bakwata abantu, nga bakozesa obutimba n'amalobo, ng'abakwata ebyennyanja. Babawalulira mu butimba, ne basanyuka nga bajaguza olw'abo be bakwasizza! Kyebava bawaayo ebitambiro eri obutimba bwabwe obwo, ne babwotereza obubaane, kubanga bubawa omugabo ogusinga obusava, ne balya bye beeroboza. Banaakozesanga ebissi byabwe bazikirize amawanga olutata awatali kusaasira? Nja kulinnya waggulu ku munaala we nkuumira, nninde okumanya Mukama by'anampa okwogera, ne by'ananziramu ku kwemulugunya kwange. Awo Mukama n'anziramu nti: “Bye nkulaga biwandiike obyole bulungi ku bipande, bibe byangu okusoma. Bikuume mu buwandiike, kubanga bikyalinda ekiseera kyabyo kituuke. Naye ekiseera tekirirwa, bye nkulaga bituukirire. Ne bwe kirabika nti kirwawo kirindirire, tekirirema kujja, era kiryanguwako. Buno bwe bubaka nti: ‘Omwonoonyi talirama. Naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kw'alina.’ ” Ng'omwenge bwe gulimbalimba abagunywa, n'abeekulumbaza bwe batyo bwe baba: tebamatira era tebatereera. Omululu gwe balina mugazi nga magombe! Bali nga Walumbe: nabo tebakkuta. Kyebava bawangula buli ggwanga, bafugenga abantu bonna. Abo bonna abawanguddwa bakudaalira abawangudde nga babayeeyereza nti: “Tezibasanze mmwe abeetuumako eby'abandi? Kale mulituusa wa okugenda nga mwebinika emisango gy'abalemwa okusasula amabanja?” Mmwe abawangudde, nammwe temuligwa ku bbanja ne musibibwa abababanja? Mulirumbibwa abalabe nga temumanyiridde, babakankanye nammwe, babanyage n'ebyammwe. Nga bwe mwanyaga abantu ab'amawanga amangi, abo abasigaddewo balibanyaga nammwe olw'okutemula abantu n'okukambuwalira ensi awamu era n'ebibuga, n'ababibeeramu bonna. Zibasanze mmwe abagaggawaza amaka gammwe nga munyaga eby'abalala, ne mwezimbira amayumba mu bifo ebinywezeddwa, nga tetuukibwayo babi. Wabula bye mwateesa biswaza maka gammwe. Mu kusaanyaawo abantu ab'amawanga amangi, mweretedde okuzikirira. N'amayinja gennyini mu bisenge galeekaana okubanenya mmwe, n'emiti egy'akasolya gigaanukula. Zibasanze mmwe abazimbira ekibuga ku kutemula abantu, ne mukinywezaawo nga muzza misango! Mukama, Nnannyinimagye ye yakkiriza ab'amawanga ge muwangudde bateganire bwereere, ebizimbe byabwe nabyo babizimbire muliro. Naye abali ku nsi balijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'ennyanja bw'ejjula amazzi. Zibasanze mmwe, kubanga mwasunguwala ne muswaza bannammwe, nga mubaleetera okutagatta ng'abatamiivu b'omwenge. Nammwe muliswazibwa mu kifo ky'okuweebwa ekitiibwa. Mulinywa omwenge ne mutagatta: Mukama alibanywesa ekikopo eky'obusungu bwe ababonereze, mu kifo ky'ekitiibwa, muswale. Eby'obukambwe bye mwakola mu Lebanooni, ka bibaddire mmwe kati. Nga bwe mwazikiriza ebisolo, mulitiisibwa ebisolo. Mulituukibwako ebyo olw'okutemula abantu n'okukambuwalira ensi awamu era n'ebibuga, n'ababibeeramu bonna. Ekifaananyi kigasa ki? Kintu buntu ekikolebwa omuntu. Tekiyigiriza mazima wabula obulimba. Eyakikola afunamu ki okwesiga ekitayogera? Zibasanze mmwe abagamba ekitittiriri nti: “Zuukuka!” Oba ejjinja nti: “Golokoka!” Kino kinaababuulira ki? Lwa kubikkibwako ffeeza ne zaabu, naye tekirina bulamu. Naye Mukama ali mu Ssinzizo lye ettukuvu. Abantu bonna ku nsi basirike mu maaso ge. Kuno kwe kusaba kw'omulanzi Habakuuku mu ddoboozi ng'ery'okukungubaga. Ayi Mukama, mpulidde ky'okoze ne ntya. Kaakati ddamu okukola ebyo bye wakolanga edda. Saasira ne bw'osunguwala! Katonda omutuukirivu ajja ng'ava mu Temani ne ku Lusozi Parani. Ekitiibwa kye kibikka eggulu, n'ensi yonna emutendereza. Ekitiibwa kye kiri ng'enjuba evaayo. Omukono gwe omukwekeddwa obuyinza bwe, gumyamyansa. Atuma Kawumpuli okumukulemberamu, alagira Walumbe okumuvaako emabega. Bw'asibamu, n'akankanya ensi. Bw'atunula, amawanga gayuuguuma, ensozi ez'olubeerera ne ziggweerera, obusozi obutaggwaawo ne bubulira wansi. Ekkubo lye ne liba nga bwe lyali edda. Nalaba ab'e Kusani nga batidde, n'ab'e Midiyaani nga bakankana! Ayi Mukama, okwebagala ku mbalaasi zo, ku magaali go ggwe omuwanguzi wasunguwalira migga? Oba wanyiigira nnyanja? Wasowolayo omutego gwo n'oguteekako obusaale okulasa. Ensi wagyasaamu n'ekulukuta emigga. Ensozi zaakulaba ne zitya! Mukoka ow'amaanyi yakulugguka n'ayitawo. Ennyanja yayira, n'esitula amayengo gaayo. Enjuba n'omwezi tebyavaayo olw'okutangaala kw'obusaale bwo obuyita, n'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa. Watambula n'oyita mu nsi ng'oliko ekiruyi, n'olinnyirira amawanga ng'osunguwadde. Weesowolayo okulokola abantu bo, okulokola oyo omusiige wo. Wabetenta omukulembeze w'ababi, n'ozikiriza b'atwala. Wakozesa obusaale bwo n'ofumita omuduumizi w'eggye lye, eryajja ng'embuyaga y'akazimu okutusaanyaawo nga lisanyuka, ng'erigenda okutigomya abaavu, abatalina bwogerero. Walinnyirira ennyanja n'embalaasi zo, amayengo ag'amaanyi ne gabimba ejjovu. Nawulira ebyo byonna ne nkankana, emimwa ne ginjugumira olw'okutya, amagumba gange ne galemala. Ne nkankanira we nnyimiridde! Ndisirika ne nnindirira olunaku Katonda lw'alibonereza abatulumba. Emitiini ne bwe gitamulisa, n'emizabbibu ne gitabala, emizayiti ne bwe gifa, emmere mu nnimiro n'etekula, embuzi ne bwe ziggwa mu kisibo, n'ente ne zitaba mu biraalo naye era ndisanyuka ne njaguza kubanga Mukama, Katonda, ye Mulokozi wange. Mukama, Katonda ye ampa amaanyi. Bwe ntambula ku nsozi, ye anyweza ebigere byange ng'eby'empeewo. Ebyo bya mukulu w'abayimbi, ebigendera ku bivuga byange eby'enkoba. Buno bwe bubaka, Mukama bwe yawa Zefaniya, mu mirembe gya Yosiya, mutabani wa Amoni, era kabaka wa Buyudaaya. Zefaniya yali mutabani wa Kuusi, Kuusi mutabani wa Gedaliya, Gedaliya mutabani wa Amariya, Amariya mutabani wa Heezeekiya. Mukama agamba nti: “Ndizikiriza ebintu byonna ku nsi, abantu bonna n'ensolo, n'ebinyonyi n'ebyennyanja era ndisanyaawo aboonoonyi. Ndizikiriza abantu obutalekaawo n'omu. Nze Mukama nze njogedde. “Ndibonereza ab'omu Buyudaaya, n'ab'omu Yerusaalemu bonna. Era ndizikiriza abasinza Baali, abakyasigaddewo mu kifo ekyo, waleme kubaawo wadde ajjukira bakabona be. Ndizikiriza buli muntu alinnya waggulu ku nnyumba n'asinza enjuba n'omwezi era n'emmunyeenye. Ndizikiriza n'abo abasinza nze Mukama, ng'ate balayira lubaale Milukomu. Ndizikiriza n'abo abanvuddeko, n'abatakyajja gye ndi wadde okunsaba okubayamba.” Musirike awali Mukama Katonda, kubanga olunaku lw'alikolerako lusembedde. Mukama ateeseteese ekitambiro, atukuzizza abagenyi be. Mukama agamba nti: “Ku lunaku olwo lwendittirako ekitambiro, ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka, n'abo bonna abeeyisa ng'abagwira. Ndibonereza abo bonna abaziza okulinnya ku mwango gw'omulyango, era abajjuza ennyumba ya mukama waabwe eby'obukambwe n'obukumpanya.” Mukama agamba nti: “Ku lunaku olwo walibaawo okukaaba ku Mulyango gw'Ebyennyanja ogw'omu Yerusaalemu, n'okutema emiranga mu kitundu ekiggya eky'ekibuga, n'okubwatuka okw'amaanyi okuva ku busozi. Muteme emiranga mmwe ab'omu kitundu ekya wansinsi eky'ekibuga, kubanga abasuubuzi bonna bazikiridde! “Awo mu kiseera ekyo ndikwata ettaala ne nfuuza Yerusaalemu. Ndibonereza abantu abali obulungi, abatalina kye beeraliikirira, era abagamba nti: ‘Mukama taliiko ky'akola, ka kibe kirungi oba ekibi.’ Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n'ennyumba zaabwe zirifuuka matongo. Tebalisula mu mayumba ge bazimbye, wadde okunywa omwenge ogw'emizabbibu gye basimbye.” Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi okutuuka. Lusembedde, era lwanguwa mangu. Olunaku lwa Mukama luliba lwa kubonaabona! N'omulwanyi omuzira alikaaba olw'obuyinike. Luliba lunaku lwa busungu, lwa buyinike, na kubonaabona, lwa kuzikirira na kuggwaawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lwa bire n'enzikiza ekutte! Luliba lunaku lwa kufuuwa ŋŋombe na kukuba nduulu ez'olutalo, nga balumba ebibuga ebiriko ebigo n'enkomera, n'eminaala emigulumivu. Mukama agamba nti: “Ndireeta obuyinike obwo ku bantu, batambule nga bamuzibe, kubanga bakoze ebibi ebinnyiiza. Omusaayi gwabwe guliyiibwa ng'amazzi, n'emirambo gyabwe girisuulibwa ng'obusa.” Ku lunaku olwo Mukama lw'aliragirako obusungu bwe, wadde ffeeza ne zaabu waabwe tebiriyinza kubawonya. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro ogw'obusungu bwe, kubanga alisaanyaawo, alimalirawo ddala bonna abali ku nsi. Mmwe ab'omu ggwanga eritalina nsonyi, mukuŋŋaane, nga temunnasaasaanyizibwa ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga, era nga Mukama tannabasunguwalira nnyo, nga n'olunaku terunnatuuka lw'aliragirako ekiruyi. Mudde eri Mukama mmwe mwenna abeetoowaze abali mu nsi, era abakola by'ayagala. Mukole ebituufu era mwetoowaze, oboolyawo muliwona ekibonerezo ku lunaku, Mukama lw'aliragirako obusungu bwe. Gaaza kiryabulirwa, Asukelooni kirisigala matongo. Ab'omu Asudoodi baligobwamu mu ttuntu. Ne Ekurooni kirisaanyizibwawo. Amo 1:6-8; Zek 9:5-7 Zibasanze mmwe Abakereti, abali ku lubalama lw'ennyanja! Mukama akusalidde omusango ggwe Kanaani, ensi y'Abafilistiya: alikuzikiriza n'otosigalamu muntu! Naawe olubalama lw'ennyanja, oliba malundiro omuli ensiisira z'abasumba, n'ebisibo by'embuzi n'endiga. Ab'omu Buyudaaya abaliwonawo, be balibeera omwo balundirengamu, era basulenga mu mayumba ag'omu Asukelooni, kubanga Mukama Katonda waabwe alibeera wamu nabo, n'abaddizaawo ebirungi. Mukama agamba nti: “Mpulidde ab'e Mowaabu n'ab'e Ammoni nga bavuma era nga bakudaalira abantu bange, era nga beewaana nga bwe bajja okunyaga ensi yaabwe. 21:28-32; 25:1-11; Amo 1:13-15 Kale nga bwe ndi omulamu, nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, ndayidde nti Mowaabu kiriba nga Sodoma, n'Abammoni baliba nga Gomora: ebifo omufuŋŋamye omwennyango, n'ebinnya omusimibwa omunnyo, era amatongo agataliggwaawo. Abantu bange abalisigalawo balinyaga ensi ezo. Bakaawonawo mu ggwanga lyange balizifuula zaabwe.” Abantu b'e Mowaabu n'ab'e Ammoni bwe batyo bwe balibonerezebwa olw'okwekulumbaza kwabwe, n'olw'okuvuma abantu ba Mukama Nnannyinimagye Mukama alibatiisa. Alitoowaza balubaale bonna ku nsi. Ab'amawanga gonna balimusinza, nga basinziira mu nsi zaabwe. Nammwe ab'e Etiyopiya Mukama alibatta. Mukama alikozesa obuyinza bwe n'azikiriza Assiriya. Ekibuga ky'e Nineeve alikifuula matongo, era kikalu ng'eddungu. Kirifuuka ekifo omunaagalamiranga amagana, n'ebisolo byonna ebya buli ngeri. Ebiwuugulu binaasulanga mu bifulukwa byakyo, biwuugulirenga mu madirisa. Binnamuŋŋoona binaakaabiranga mu miryango. Emiti emyole egya keduro giriggyibwa ku bizimbe byakyo. Ebyo bye birituuka ku kibuga ekyenyumirizanga olw'obuyinza bwakyo, ne kirowooza nti tekirituukibwako kabi. Kyewaananga nti: “Nze tewali annenkana!” Nga kirifuuka matongo, ekifo ebisolo we biwummulira! Buli ayitawo aneesoozanga n'afunya ebikonde, n'anyeenya emikono gye. Yerusaalemu zikisanze ekibuga ekyo ekyonoonefu era ekijeemu, ekibonyaabonya abantu baakyo! Tekyawuliriza n'omu era tekyakkiriza kubuulirirwa. Tekyesiga Mukama, era tekyeyuna eri Katonda waakyo. Abakungu baamu bali ng'empologoma eziwuluguma, abalamuzi baamu bali ng'emisege egy'akawungeezi, egyayitirira amaddu obutafissaawo ggumba okutuusa enkeera! Abalanzi baamu baggwaamu ensa, era ba nkwe. Bakabona baakyo boonoona ebitukuvu. Bafuulafuula amateeka ga Katonda, okufuna bye baagala. Naye Mukama akyali mu kibuga ekyo akola ebituufu, era talikola bikyamu. Buli nkya, awatali kwosa, alaga nga bw'ali omwenkanya. Naye abantu ababi tebakwatibwa nsonyi, bongera kukola bibi! Mukama agamba nti: “Nsaanyizzaawo amawanga, ebigo byago ebigumu bisigadde matongo. Nzisizza enguudo zaago, ne wataba aziyitamu. Ebibuga byago byabuliddwa, tewakyali babibeeramu. Olwo ne ŋŋamba nti abantu bange bananzisaamu ekitiibwa, banakkiriza bye mbabuulirira, ennyumba zaabwe zireme kusaanawo olw'ebyo byonna bye nababonerezaamu. Naye beeyongera bweyongezi okukola ebikolwa ebibi!” Mukama agamba nti: “Mugira munnindako okutuuka ku lunaku lwe ndisitukirako okutandika omuyiggo. Mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga n'obwakabaka, mbimalireko essungu n'ekiruyi. Omuliro gw'obuggya bwe mpulira, gulizikiriza ensi zonna. “Mu biro ebyo ndikyusa emitima gy'abantu ab'omu mawanga, basinzenga nze nzekka, era bampeerezenga n'omutima gumu. Abalinneegayirira be bantu bange abaasaasaana. Banaavanga emitala w'emigga egy'omu Etiyopiya ne bandeetera ebirabo. Mu kiseera ekyo mmwe abantu bange temuliswazibwa olw'ebikolwa byammwe eby'okunjeemera, kubanga ndiggyawo mu mmwe abeekulumbaza era abeenyumiriza, ne mutaddamu kunjeemera ku lusozi lwange olutukuvu. Mu mmwe ndirekamu abo abeetoowaze era abaavu, abananneesiganga nze Mukama. Abayisirayeli abaliwonawo tebaakolenga bikyamu. Tebaalimbenga, era tebaayogerenga bya bukuusa. Banaabeeranga bulungi, era tewaliba abatiisa.” Abayisirayeli, muyimbe musaakaanye! Ab'omu Yerusaalemu, musanyuke, mujaganye n'omutima gwammwe gwonna. Mukama aggyeewo emisango gyammwe, agobye abalabe bammwe bonna. Mukama, Kabaka wa Yisirayeli ali wamu nammwe, tewakyali kibatiisa. Ekiseera kijja kutuuka bagambe Yerusaalemu nti: “Totya, ggwe Siyooni! Emikono gyo gireme kuddirira! Mukama, Katonda wo, ali wamu naawe, ye muzira akulwanirira n'owangula. Alikusanyukira nnyo, aliddamu okukulaga okwagala kwe, alikwaniriza ng'ayimba nga musanyufu, ng'abali ku mbaga bwe basanyuka.” Mukama agamba nti: “Nzigyeewo akabi akandikutuuseeko, era nkuggyeeko obuswavu. “Ekiseera kijja kutuuka mbonereze bonna abaakubonyaabonya. Ndiwonya abalema, ne nkuŋŋaanya abaasaasaanyizibwa. Okuswala kwabwe ndikufuula ekitiibwa, ensi zonna ne zibatendereza. Ekiseera kijja kutuuka mbakuŋŋaanye mmwe, mbakomyewo ewammwe. Ndibafuula abamanyiddwa mu bantu bonna ku nsi, bwe ndibaddizaawo ebirungi nga mulaba.” Mukama ye ayogedde. Mu mwaka ogwokubiri, nga Dariyo ye kabaka wa Perusiya, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'omukaaga, Mukama Nnannyinimagye n'ayogerera mu Haggayi omulanzi. Bye yayogera byali bya kutwalira Zerubabbeeli, mutabani wa Seyalutiyeli, era omufuzi wa Buyudaaya, ne Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki. Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Abantu bano bagamba nti ekiseera tekinnatuuka okuzimba obuggya Essinzizo lya Mukama.” Mukama kyeyava ayogerera mu mulanzi Haggayi ng'agamba nti: “Lwaki mmwe musula mu mayumba agazimbiddwa obulungi, Essinzizo lyange nga lirekeddwa awo lityo? Kale kaakano mulabe ebibatuuseeko. Mwasiga bingi, naye mwakungula bitono. Mulya, naye temukkuta. Munywa, naye byemunywa tebibamala nnyonta. Mwambala, naye temubuguma. Empeera omukozi gy'afuna, emuyita mu myagaanya gya ngalo. Temuyinza kulaba ekibatuusizza ku ebyo? Mwambuke ku lusozi, muleete emiti, muzimbe buggya Essinzizo, ndyoke nsanyuke, era mpeebwe ekitiibwa ekinsaanira. “Mwasuubira kukungula bingi, naye ne biba bitono. Bwe mwabireeta eka, ne mbyonoona. Nakola bwe ntyo, kubanga Essinzizo lyange lirekeddwa awo lityo, nga buli omu ku mmwe yeemalidde ku nnyumba ye. Enkuba kyevudde erema okutonnya, n'ettaka ne litabaza bibala. Ndeese ekyeya ku nsi: ku nsozi ne ku nnimiro z'eŋŋaano, n'ez'emizabbibu, n'ez'emizayiti, ne ku birime byonna, ne ku bantu ne ku nsolo, ne ku byonna bye mukola.” Awo Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, n'abantu bonna abaakomawo, ne bakola nga Mukama Katonda waabwe bwe yabalagira. Baatya ne bagondera obubaka bwa Haggayi omulanzi, Mukama gwe yatuma. Awo Haggayi n'atuusa ku bantu obubaka bwa Mukama nti: “Mukama agamba nti: ‘Ndi wamu nammwe.’ ” Awo Mukama Nnannyinimagye n'ateeka mu Zerubabbeeli omufuzi wa Buyudaaya, era mutabani wa Seyalutiyeli, mu Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, ne mu bantu bonna abaakomawo, omwoyo ogw'okukola ku Ssinzizo. Ne bajja ne bakola ku Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye, Katonda waabwe, ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'omukaaga, mu mwaka ogwokubiri, nga Dariyo ye kabaka. Ku lunaku olw'amakumi abiri mu olumu, olw'omwezi ogw'omusanvu, mu mwaka ogwo, Mukama era n'ayogerera mu Haggayi omulanzi. N'agamba Haggayi nti: “Tegeeza Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli era omufuzi wa Buyudaaya, ne Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, n'abantu bonna abaakomawo, obagambe nti: ‘Ani mu mmwe abasigaddewo, eyalaba ku Ssinzizo lino mu kitiibwa kyalyo ekyasooka? Era mukiraba mutya kaakano? Temulaba nga si lyakitiibwa? Naye ggwe Zerubabbeeli, naawe Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, era nammwe mwenna abantu abali mu nsi eno, temuggwaamu maanyi. Mukole omulimu, kubanga ndi wamu nammwe, nze Mukama Nnannyinimagye. Bwe mwali muva e Misiri, nabasuubiza okubeeranga awamu nammwe bulijjo. N'olwekyo muleme kutya. “ ‘Esigadde ekiseera kitono, nkankanye eggulu n'ensi, n'ennyanja n'olukalu. Nja kukankanya amawanga gonna, ebyobugagga byago bireetebwe wano, Essinzizo ndijjuze ebyobugagga. Ffeeza yenna ne zaabu yenna wange. Essinzizo eriggya liriba lya kitiibwa okusinga liri eryasooka, era mu lyo mwe ndiweera abantu bange ebirungi n'emirembe.’ ” Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde. Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'omwenda, mu mwaka ogwokubiri, nga Dariyo ye kabaka, Mukama era n'ayogera ne Haggayi omulanzi. Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Buuza bakabona basalewo ku nsonga eno. Omuntu bw'asala ekifi ky'ennyama ku kitambiro ekitukuvu, ekifi ekyo n'akitwalira mu lugoye lw'ayambadde, ekirenge ky'olugoye olwo ne kikoona ku mugaati, oba ku mugoyo, oba ku muzigo, oba ku kyokulya ekirala kyonna, ekyokulya ekyo kifuuka kitukuvu?” Bakabona ne baddamu nti: “Nedda.” Awo Haggayi n'abuuza nti: “Omuntu bw'afuuka atali mulongoofu olw'okukwata oba okukoona ku mulambo, n'akwata ku kimu ku byokulya ebyo, kifuuka ekitali kirongoofu?” Bakabona ne baddamu nti: “Ddala, kifuuka ekitali kirongoofu.” Awo Haggayi n'agamba nti: “Mukama agamba nti: Bwe kityo bwe kiri ne ku bantu b'eggwanga lino, ne ku byonna bye bakola. Buli kye baleeta wano mu maaso gange, si kirongoofu.” Mukama agamba nti: “Temuyinza kulaba bibatuuseeko mmwe? Bwe mwali temunnatandika kuzimba buggya Ssinzizo lyange, omuntu bwe yajjanga ku ntuumu y'eŋŋaano, ng'asuubira okusangako kilo ebikumi bibiri, waabangawo kikumi kyokka. Bwe yajjanga ku ssogolero okusena lita ekikumi ez'omwenge ogw'emizabbibu, yasenangamu amakumi ana gokka. Nababonereza nga nsindika okugengewala n'obukuku n'omuzira mu birime byammwe byonna, naye era temwakyuka kudda gye ndi. Olwaleero lwe lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'omwenda, olumaliriziddwako okuzimba omusingi gw'Essinzizo lyange. Mwekkaanye ekigenda okubaawo okuva leero. Newaakubadde nga mu ggwanika temukyali ŋŋaano ya kusiga, wadde ng'emizabbibu n'emitiini, n'emikomamawanga, n'emizayiti teginnabala, naye okuva ku lunaku lwaleero, nja kubawa omukisa.” Ku lunaku olwo, olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi, Mukama n'awa Haggayi obubaka omulundi ogwokubiri, agambe Zerubabbeeli, omufuzi wa Buyudaaya nti: “Nja kukankanya eggulu n'ensi, nzigyewo obwakabaka bw'amawanga, mmalewo n'obuyinza bwago. Nja kusuula amagaali n'abo abagatambuliramu. Embalaasi zijja kufa, n'abazeebagala bajja kuttiŋŋana. Ku lunaku olwo, ndikutwala ggwe Zerubabbeeli omuweereza wange, era mutabani wa Seyalutiyeli, ne nkuteekawo ofuge mu linnya lyange, kubanga ggwe nnonze.” Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde. Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogwokubiri nga Dariyo ye kabaka wa Perusiya, Mukama n'awa omulanzi Zekariya, mutabani wa Berekiya, era muzzukulu wa Yiddo, obubaka, ategeeze abantu nti: “Nze, Mukama, nasunguwalira nnyo bajjajjammwe. Naye kaakano mbagamba nti: Mudde gye ndi, nze Mukama Nnannyinimagye, nange nja kudda gye muli. Muleme okuba nga bajjajjammwe. Abalanzi ab'edda baabatuusangako obubaka bwange, nga babagamba nti: Mukama Nnannyinimagye abagamba nti muve mu mpisa zammwe embi, era mulekere awo okukola ebikolwa ebibi. Naye bo ne batawuliriza bye mbagamba, wadde okukola bye mbalagira. Bajjajjammwe bali ludda wa? N'abalanzi baba balamu emirembe gyonna? Naye okulabula n'okukuutira bye nayisa mu baweereza bange abalanzi, tebyatuukirira ku bajjajjammwe? Olwo ne beenenya ne bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye atubonerezza nga bwe tusaanidde, era nga bwe yamalirira okutubonereza.’ ” Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi ogwa Sebati, mu mwaka ogwokubiri nga Dariyo ye kabaka, Mukama n'awa omulanzi Zekariya, mutabani wa Berekiya, era muzzukulu wa Yiddo, obubaka. Zekariya n'agamba nti: “Ekiro nalaba malayika wa Mukama nga yeebagadde embalaasi emmyufu, era ng'ayimiridde wakati mu miti emikadasi, egyali mu kiwonvu. Emabega we waaliwo embalaasi endala emmyufu, n'eza kikuusikuusi, era n'enjeru. Awo ne mmubuuza nti: ‘Mukama wange, embalaasi ezo, kiki kye zitegeeza?’ Malayika oyo n'aŋŋamba nti: ‘Nja kukulaga kye zitegeeza.’ Ezo Mukama ye azisindise okulambula ensi.” Ne zigamba malayika oyo eyali ayimiridde wakati mu miti emikadasi nti: “Tulambudde ensi yonna, ne tusanga ng'etebenkedde mirembe.” Awo malayika wa Mukama n'agamba nti: “Ayi Mukama Nnannyinimagye, osunguwalidde Yerusaalemu n'ebibuga bya Buyudaaya okumala emyaka nsanvu. Olimala bbanga ki nga tonnabikwatirwa kisa?” Mukama n'addamu malayika ebigambo ebirungi era ebigumya. Malayika oyo n'aŋŋamba nnangirire ebyo Mukama Nnannyinimagye bye yayogera nti “Nnumirwa nnyo Yerusaalemu ne Siyooni, era nsuguwalidde nnyo amawanga agatebenkedde, kubanga nanyiigako katono, ne bongera okulumya abantu bange. Kyenvudde nkomawo mu Yerusaalemu, okukikwatirwa ekisa. Essinzizo lyange lijja kuzimbibwa buggya mu kyo, era nakyo kizimbibwe buggya.” Malayika era n'aŋŋamba okulangirira nti: “Mukama Nnannyinimagye agamba nti ebibuga bye, biriddamu okuba obulungi, era nti aliddamu okuyamba Yerusaalemu, n'okukibala ng'ekibuga kye, kye yeeroboza.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba amayembe ana. Malayika eyali ayogera nange, ne mmubuuza nti: “Amayembe ago, gategeeza ki?” N'anziramu nti: “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli, n'ab'omu Yerusaalemu.” Awo Mukama n'andaga abaweesi bana. Ne mbuuza nti: “Abo bazze kukola ki?” N'addamu nti: “Bazze okutiisa amawanga agaalinnyirira Buyudaaya, ne gasaasaanya abantu baamu, era bazze okusaanyaawo obuyinza bwago.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba omuntu akutte omuguwa ogugera. Ne mbuuza nti: “Ogenda wa?” N'anziramu nti: “Okugera Yerusaalemu, ndyoke ndabe bwe kyenkana obuwanvu n'obugazi.” Awo malayika eyali ayogera nange, bwe yali ng'agenda, malayika omulala n'ajja okumusisinkana, n'amugamba nti “Dduka ogambe omuvubuka oyo akutte omuguwa ogugera, nti Yerusaalemu kiribaamu abantu abatagya mu kigo, kubanga baliba bangi era n'amagana mangi. Mukama agamba nti ye yennyini ye aliba ekigo eky'omuliro okwetooloola ekibuga, era nti anaakibeerangamu mu kitiibwa kye kyonna.” Mukama n'agamba abantu be nti: “Musituke, musituke, muve mu nsi ey'omu bukiikakkono! Nabasaasaanyiza buli wantu, ng'empewo ennya ez'eggulu. Musituke, mudduke muve mu batuuze b'e Babilooni, mudde mu Siyooni. Buli akoona ku mmwe aba akoonye ku mmunye ya liiso lyange.” Mukama Nnannyinimagye, eyantuma olw'ekitiibwa kye, bino by'agamba amawanga agaanyaga abantu be. Agamba nti: “Mukama yennyini ye alibalwanyisa mmwe, era abantu abaali abaddu bammwe, balibanyaga mmwe.” Ekyo bwe kirituukirira, mulimanya nga Mukama Nnannyinimagye ye yantuma. Mukama agamba nti: “Muyimbe olw'essanyu mmwe abantu b'omu Yerusaalemu, kubanga nzija, mbeerenga wamu nammwe.” Mu kiseera ekyo, ab'omu mawanga mangi balijja eri Mukama, ne bafuuka bantu be. Mukama Nnannyinimagye anaabeeranga wamu nammwe, era mmwe mulitegeera nga ye yantuma gye muli. Buyudaaya eriba ya Mukama mu ngeri ey'enjawulo, mu nsi ye entukuvu, era Yerusaalemu kiriddamu okuba ekibuga kyayo kye yeeroboza. Musirike mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera. Awo Mukama n'andaga Yoswa Ssaabakabona, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama. Ku ludda lwa Yoswa olwa ddyo waali wayimiriddewo Sitaani, nga yeetegese okulumiriza Yoswa. Malayika wa Mukama n'agamba Sitaani nti: “Mukama akunenye, ggwe Sitaani! Ddala, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemu akunenye! Omuntu ono ali ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro.” Yoswa yali ayambadde ebyambalo ebijama, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika. Malayika n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge nti: “Mumwambulemu ebyambalo ebijama.” Awo n'agamba Yoswa nti: “Nkuggyeeko ekibi kyo, era nja kukwambaza ebyambalo ebyekitiibwa.” N'alagira nti: “Mumutikkire ku mutwe ekiremba ekitukula.” Awo ne bamutikkira ku mutwe ekiremba ekitukula, era ne bamwambaza ebyambalo nga malayika wa Mukama ayimiridde awo. Awo malayika wa Mukama n'akuutira nnyo Yoswa nti: “Bw'onookwatanga amateeka gange, era n'otuukirizanga bye nkulagira okukola, olwo ojja kwongera okulabiriranga Essinzizo lyange n'empya zaalyo, era nnaakukkirizanga okusembera we ndi mu ngeri ye emu nga bano abayimiridde wano. Kale ggwe Yoswa Ssaabakabona, wulira. Era nammwe bakabona banne muwulire: mmwe kabonero ak'ebiseera eby'omu maaso ebirungi. Ndireeta omuweereza wange ayitibwa Ttabi. Laba nteeka mu maaso ga Yoswa ejjinja limu nga lya njuyi musanvu. Ku lyo nja kwolako ekiwandiiko, era ndiggyawo ekibi ky'ensi eno mu lunaku lumu. Okuva ku lunaku olwo, buli omu mu mmwe anaayitanga munne okujja basanyukireko wamu, nga bali wansi w'omuzabbibu oba wansi w'omutiini.” Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa, nga bwe bazuukusa omuntu ali mu tulo. N'aŋŋamba nti: “Olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba ekikondo ky'ettaala ekya zaabu, n'ekibya ekiri waggulu ku kyo. Ku kikondo ekyo kuliko ettaala musanvu, nga buli ttaala eriko entambi musanvu. Ku mabbali gaakyo, waliwo emiti emizayiti ebiri, gumu ku buli ludda.” Olwo ne mbuuza malayika nti: “Mukama wange, ebyo bitegeeza ki?” Malayika oyo n'ambuuza nti: “Tomanyi ebyo kye bitegeeza?” Ne nziramu nti: “Nedda, mukama wange.” Awo n'aŋŋamba okutwalira Zerubabbeeli obubaka buno obuva eri Mukama Nnannyinimagye, obugamba nti nti: “Oliwangula, si lwa kuba ng'oli wa maanyi mu kulwana, wadde ow'obuyinza, naye lwa mwoyo gwange. Ebizibu ebigulumivu ng'olusozi, birivaawo mu maaso go. Olizimba Essinzizo obuggya, era bw'oliba ozimbako ejjinja erimaliriza, abantu balireekaana nti: ‘Nga ddungi, nga ddungi!’ ” Era ne nfuna obubaka obulala obuva eri Mukama nga bugamba nti: “Zerubabbeeli ataddewo omusingi gw'Essinzizo, era alirizimba n'alimaliriza. Olwo abantu bange balitegeera nga Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze nakutuma gye bali, kubanga ababadde baterebuse olw'okulaba ng'ekikolebwa kitono, balisanyuka bwe baliraba nga Zerubabbeeli azimba Essinzizo.” Malayika oyo era n'aŋŋamba nti: “Ettaala omusanvu ge maaso ga Mukama, agalaba wonna ku nsi.” Awo ne mmubuuza nti: “Emiti emizayiti gino ebiri egiri ku buli ludda lw'ekikondo ky'ettaala, gitegeeza ki? Era amatabi gano abiri ag'emizayiti agali ku mabbali g'enseke ebbiri eza zaabu, omuyita omuzigo ogw'emizayiti, gategeeza ki?” N'ambuuza nti: “Tomanyi kye gategeeza?” Ne nziramu nti: “Nedda, mukama wange.” Awo n'agamba nti: “Amatabi ago be bantu ababiri, Mukama w'ensi zonna be yalonda, n'abafukako omuzigo, okumuweerezanga.” Era nate ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga. Malayika n'ambuuza nti: “Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti: “Ndaba omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, nga gwa mita mwenda obuwanvu, ne mita nnya n'ekitundu obugazi.” Awo n'aŋŋamba nti: “Guwandiikiddwako ekikolimo ekijja okubuna ensi yonna. Ku ludda olumu, omuzingo guwandiikiddwako nti buli abba, aliggyibwa mu nsi. Ku ludda olulala guwandiikiddwako nti buli alimba ng'alayira, naye aliggyibwamu. Mukama Nnannyinimagye agamba nti alisindika ekikolimo ekyo, ne kiyingira mu nnyumba ya buli muntu abba, ne mu ya buli muntu alimba ng'alayira, era kiribeera mu nnyumba zaabwe, ne kizisaanyizaawo ddala.” Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti: “Kale yimusa amaaso go olabe ekyo ekijja.” Ne mbuuza nti: “Kiki ekyo?” N'addamu nti: “Ekyo kisero, era kitegeeza ekibi ky'ensi yonna.” Ekisero kyaliko ekisaanikira ekikoleddwa mu kyuma ekizito. Awo ekisaanikira ne kibikkulwa, mu kisero nga mulimu omukazi atudde. Malayika n'agamba nti: “Omukazi ono kye kibi.” Awo n'amuzzaamu mu kisero, n'akibikkako ekisaanikira. Bwe nayimusa amaaso gange ne ndaba abakazi babiri abajja nga baseeyeeya mu bbanga, nga balina ebiwaawaatiro, ne babuuka nakyo mu bbanga. Malayika eyali ayogera nange, ne mmubuuza nti: “Ekisero bakitwala wa?” N'anziramu nti: “Bakitwala mu nsi y'e Sinaari okukizimbirayo ennyumba. Bw'eriggwa okuzimba ne bakiteeka omwo.” Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba amagaali ana, nga gava wakati w'ensozi bbiri ez'ekikomo. Eggaali erisooka lyali lisikibwa embalaasi emmyufu, eryokubiri nga lisikibwa embalaasi enzirugavu, eryokusatu nga lisikibwa embalaasi enjeru, n'eryokuna nga lisikibwa embalaasi ez'amabomboola. Awo malayika eyali ayogera nange ne mmubuuza nti: “Mukama wange, amagaali ago gategeeza ki?” N'anziramu nti: “Ezo ze mbuyaga ennya, ezaakava mu maaso ga Mukama w'ensi yonna.” Eggaali erisikibwa embalaasi enzirugavu lyali liraga mu bukiikakkono, n'embalaasi enjeru nga zigoberera. Embalaasi ez'amabomboola zaali ziraga mu nsi ey'omu bukiikaddyo. Embalaasi ezo ez'amabomboola zaavaayo nga zaagala nnyo okugenda okutalaaga ensi. Malayika n'agamba nti: “Mugende mutalaage ensi.” Awo malayika n'aŋŋamba mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Embalaasi eziraze mu bukiikakkono zikkakkanyizza obusungu bwa Mukama.” Awo Mukama n'ampa obubaka buno nti: “Twala ebirabo ebireeteddwa Eludiya ne Tobiya ne Yedaaya, abakomyewo okuva e Babilooni, ogende ku lunaku olwo lwennyini oyingire mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zefaniya. Otoole ku ffeeza ne zaabu gwe baleese, okolemu engule, ogitikkire ku mutwe gwa Ssaabakabona Yoswa, mutabani wa Yehozadaaki. Omutegeeze nti Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Omuntu ayitibwa Ttabi alikulira mu kifo mw'ali, era alizimba Essinzizo lya Mukama. Oyo ye alizimba Essinzizo eryo, n'aweebwa ekitiibwa ekya kabaka era ye alifuga abantu be. Walibaawo kabona ayimirira okumpi n'entebe ye ey'obwakabaka, ne bakolera wamu mu kuteesa okw'emirembe.’ Engule eyo eneebeeranga mu Ssinzizo lya Mukama, okujjuukirirangako Helemu ne Tobiya ne Yedaaya, ne Heeni mutabani wa Zefaniya.” Awo abali ewala balijja ne bayamba okuzimba obuggya Essinzizo lya Mukama. Bwe lirimala okuzimbibwa obuggya, mulimanya nga Mukama Nnannyinimagye ye yantuma gye muli. Ebyo birituukirira, bwe mulinyiikira okuwulira ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe. Mu mwaka ogwokuna nga Dariyo ye kabaka, ku lunaku olwokuna olw'omwezi ogw'omwenda, oguyitibwa Kisuleevu, Mukama n'ampa obubaka nze Zekariya. Abantu b'e Beteli baali batumye Sarezeeri ne Regemmeleki n'abantu baabwe okwegayirira Mukama abakwatirwe ekisa, n'okubuuza bakabona era n'abalanzi ab'omu Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye ekibuuzo kino nti: “Twongere okukungubagira okuzikirizibwa kw'Essinzizo, nga tusiiba mu mwezi ogwokutaano nga bwe twakolanga edda?” Awo Mukama Nnannyinimagye n'ampa obubaka buno nti: “Gamba abantu bonna abali mu nsi eno ne bakabona nti bwe mwasiibanga ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw'omusanvu mu myaka gino ensanvu, temwakikolanga lwa kussaamu nze kitiibwa. Era bwe mwalyanga ne bwe mwanywanga, mwakikolanga lwa kwesanyusa mmwe mwennyini.” Bino Mukama bye yayogerera mu balanzi ab'edda, mu kiseera Yerusaalemu mwe kyabeerera obulungi nga kijjudde abantu, era abantu mwe baabeerera abangi mu byalo ebikiriraanye, ne mu kitundu eky'omu bukiikaddyo, ne mu nsenyi ez'omu bugwanjuba bwakyo. Awo Mukama n'awa Zekariya obubaka buno nti: “Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nawa abantu bange ebiragiro bino nti: ‘Musalenga emisango mu bwenkanya. Buli omu akwatirwenga munne ekisa, era amusaasirenga. Mulemenga kunyigiriza bannamwandu ne bamulekwa, wadde abagwira n'abaavu. Era mulemenga kuteesa kukola kabi ku bannammwe.’ “Naye abantu bange ne beerema, ne bagaana bugaanyi okuwulira. Ne batassaayo mwoyo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'olwazi, baleme okuwulira amateeka n'ebiragiro, Nze Mukama Nnannyinimagye bye nabawanga, nga mpita mu balanzi ab'edda. Kyennava mbasunguwalira ennyo, kubanga baagaana okuwulira bye nayogeranga, nange saabaddangamu bwe banneegayiriranga. Ng'embuyaga ey'amaanyi, nabasaasaanya mu mawanga gonna ge baali batamanyi, ensi eno ennungi eyeegombebwa ne bagireka awo, n'efuuka matongo, nga tewakyali agibeeramu.” Awo Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Nnumirwa nnyo ekibuga Yerusaalemu, era olw'okukyagala ennyo, kyenva nsunguwalira abalabe baakyo. Nja kukomawo mu Yerusaalemu ekibuga kyange ekitukuvu, nkibeerengamu. Kinaayitibwanga Kibuga Kyesigwa, era Lusozi lwa Mukama Nnannyinimagye, Olusozi Olutukuvu. Abakadde abasajja n'abakazi abatambula nga bakutte emiggo mu ngalo olw'okuba nga bakaddiye nnyo, baliddamu okutuula mu mpya za Yerusaalemu. Era enguudo zaakyo ziriddamu okujjula abaana abalenzi n'abawala abazannyiramu. “Ekyo abantu b'eggwanga lino abasigaddewo bayinza okukiraba ng'ekitasoboka, naye nze nkisobola. Ndinunula abantu bange, ne mbaggya mu nsi ez'ebuvanjuba n'ez'ebugwanjuba gye baatwalibwa, ne mbakomyawo mu Yerusaalemu. Baliba bantu bange, nze ne mba Katonda waabwe, nga mbafuga n'obwesigwa n'amazima. “Mube ba maanyi mmwe, abawulira kaakano ebigambo bino, abalanzi bye baayogera kasookedde musingi gutandikibwawo, okuzimba obuggya Essinzizo lyange. Ekiseera ekyo nga tekinnabaawo, tewaali kupangisa bantu wadde ensolo, era tewaali afuluma, wadde ayingira nga teyeeraliikirira mulabe, kubanga nakyawaganya abantu. Naye kaakano abantu b'eggwanga lino abasigaddewo sikyabayisa nga bwe nabayisanga edda. Banaasiganga ensigo nga bali mirembe. Emizabbibu ginaabalanga ebibala byagyo, ettaka linaabazanga ebirime, n'enkuba eneetonnyanga. Ndiwa abantu b'eggwanga lino abasigaddewo ebirungi ebyo byonna. Mmwe ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli, ab'amawanga amalala baakozesanga erinnya lyammwe nga bakolima. Naye kaakano nja kubanunula mmwe, abantu abo bakozesenga erinnya lyammwe nga bawa omukisa. Kale temutya, naye mube ba maanyi.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Bajjajjammwe bwe bansunguwaza, namalirira okubabonereza, era sakyusa kirowoozo kyange, wabula nakituukiriza. Naye kaakano mmaliridde okuwa abantu b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya omukisa. N'olwekyo temutya. Bino bye muteekwa okukolanga: buli omu abuulirenga munne amazima. Mu mbuga z'amateeka, musalenga emisango mu bwenkanya mu ngeri ereeta emirembe. Mulemenga kulowooza mu mitima gyammwe kukola kabi ku bannammwe. Mulemenga kulayira bya bulimba, kubanga nkyawa obulimba n'obutali bwenkanya, n'obukambwe.” Mukama Nnannyinimagye n'ampa obubaka buno nti: “Okusiiba okw'omu mwezi ogwokuna n'ogwokutaano, n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'ogw'ekkumi, kulifuuka ennaku enkulu ez'okusanyuka n'okujaguza mu bantu b'omu Buyudaaya. Kale mwagalenga amazima era n'emirembe.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ekiseera kirituuka, abantu ababeera mu bibuga ebingi ne bajja e Yerusaalemu. Ab'omu kibuga ekimu baligamba ab'omu kibuga ekirala nti: ‘Mujje tugende tusinze Mukama Nnannyinimagye, era tumusabe omukisa. Nange nja kugenda.’ Amawanga ag'amaanyi n'abantu bangi balijja e Yerusaalemu okusinza Mukama Nnannyinimagye, n'okumusaba omukisa. Mu nnaku ezo, abantu kkumi ab'amawanga amalala, n'ab'eddiini endala, balyekwata ku Muyudaaya, ne bagamba nti: ‘Twagala tugende naawe, kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ ” Buno bwe bubaka bwa Mukama; amaliridde okubonereza ensi y'e Haduraki n'ekibuga ky'e Damasiko, kubanga ekibuga kya Siriya ekikulu, kya Mukama, ng'ebika bya Yisirayeli bwe biri ebibye. Mat 11:21-22; Luk 10:13-14 Hamati ekiriraanye Haduraki nakyo kya Mukama, nga Tiiro ne Sidoni bwe biri ebibye, awamu n'amagezi gaabyo gonna. Tiiro kyezimbidde ekigo ekigumu, ne kyekuŋŋaanyiza ffeeza omungi ng'enfuufu, ne zaabu omungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo. Naye Mukama alikiggyako ebyakyo byonna. Alisuula obugagga bwakyo mu nnyanja, era ekibuga kiryokebwa omuliro. Ekibuga ky'e Asukelooni kiriraba ebyo, ne kitya. Ne Gaaza kirirumwa nnyo. Era ne Asukelooni nakyo kirirumwa, kubanga byonna bye kyali kisuubira, biriba bifudde. Gaaza kirifiirwa kabaka waakyo, ne Asukelooni tekiribaamu bantu. Amo 1:6-8; Zef 2:4-7 Abantu ab'omusaayi omutabule balibeera mu Asudoodi. Mukama agamba nti: “Nditoowaza Abafilistiya abo bonna abeekulumbaza. Ndibaziyiza okulya ennyama erimu omusaayi, n'ebyokulya ebirala eby'omuzizo. Abalisigalawo bonna, balifuuka kitundu kya bantu bange, babe ng'ab'omu Kika kya Yuda. Ab'omu Ekurooni balifuuka kitundu kya bantu bange, ng'Abayebusi bwe baafuuka. Ndikuuma ensi yange, ne nziyiza amagye okugiyitamu. Sirireka bantu bakambwe kwongera kunyigirizanga bantu bange, kubanga kaakano ndabye engeri abantu bange gye babonaabonamu.” Musanyuke, musanyuke mmwe abantu b'omu Siyooni! Muleekaane olw'essanyu mmwe ab'omu Yerusaalemu! Mulabe, Kabaka wammwe ajja gye muli, ng'ajjira mu kitiibwa eky'omuwanguzi. Muteefu era yeebagadde endogoyi, yeebagadde omwana gw'endogoyi. Mukama agamba nti: “Ndiggya amagaali g'entalo mu Yisirayeli, n'embalaasi mu Yerusaalemu, era ndiggyawo omutego gw'obusaale ogukozesebwa mu lutalo. Kabaka oyo aliwa amawanga emirembe. Alifuga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, okuva ku mugga Ewufuraate, okutuuka ensi gy'ekoma.” Mukama agamba nti: “Olw'endagaano gye nakola nammwe eyakakasibwa n'omusaayi gw'ebitambiro, abantu bammwe abaasibibwa ndibaggya mu bunnya obutaliimu mazzi. Mukomeewo mmwe abasibe, kaakano abalina essuubi, mudde mu kigo ekigumu. Olwaleero mbagamba nti: ebyo byonna bye mwafiirwa mu kubonaabona, ndibibaddizaawo emirundi ebiri. Ndikozesa Buyudaaya ng'omutego gw'obusaale, ne Yisirayeli ng'obusaale. Ndikozesa ab'omu Siyooni ng'ekitala okulwanyisa ab'omu Buyonaani.” Mukama alirabikira waggulu w'abantu be, alirasa obusaale ne buvaayo ng'okumyansa kw'eggulu. Mukama Katonda alifuuwa eŋŋombe. Alikumbira mu kibuyaga ow'omu bukiikakkono. Mukama Nnannyinimagye alikuuma abantu be, ne bazikiriza abalabe baabwe. Nga bali mu lutalo, balireekaana ng'abatamiivu. Balitta abalabe baabwe, omusaayi ne gukulukuta ng'ogw'ebitambiro ogujjuza ekibya, ne gutobya ensonda z'alutaari. Ku lunaku olwo Mukama Katonda alinunula abantu be ng'omusumba bw'awonya endiga ze akabi. Balimasamasa mu nsi ye ng'amayinja ag'omuwendo mu ngule. Ensi eyo ng'eriba nnungi esikiriza! Abalenzi n'abawala tebalijula ŋŋaano na mwenge musu. Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo mw'etonnyera. Mukama ye agaba ebire by'enkuba etonnya n'emereza bonna ebimera mu nnimiro. Abantu beebuuza ku mayembe ne ku balaguzi, ne ku bavvuunuzi b'ebirooto, naye bye babaddamu bya bulimba, biwubisa, era tebiriimu mugaso. Abantu kyebava batangatanga ng'endiga ezibuze. Babonaabona olw'obutaba na mukulembeze. Mukama agamba nti: “Nsunguwalidde abakulembeze, abafuzi b'abantu bange, era nja kubabonereza. Abantu b'omu Buyudaaya bange, era Nze, Mukama Nnannyinimagye, nja kubalabirira. Nja kubafuula ng'embalaasi zange ez'omu lutalo ez'amaanyi. Mu bo mulivaamu abafuzi n'abakulembeze n'abaduumizi b'eggye, abalifuga abantu bange. Abantu b'omu Buyudaaya baliba ng'abalwanyi abazira, abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo. Balirwana, kubanga Mukama ali wamu nabo, era baliwangula n'abalabe abeebagala embalaasi. “Ndiwa ab'omu Buyudaaya amaanyi, ndiwa ab'omu Yisirayeli obuwanguzi. Ndibakwatirwa ekisa, ne mbakomyawo ewaabwe. Baliba nga be sigobanga, kubanga nze Mukama Katonda waabwe, era ndiwulira bye basaba. Ab'omu Yisirayeli baliba ba maanyi ng'abalwanyi abazira. Balisanyuka ng'abanywedde omwenge. Bazzukulu baabwe banajjukiranga kino ne basanyuka olw'ebyo Mukama by'akoze. “Ndiyita abantu bange, ne mbakuŋŋaanya. Ndibanunula era baliba bangi nga bwe baabanga edda. Newaakubadde nabasaasaanya mu mawanga, naye balinzijukira nga bali mu nsi ez'ewala, era bo n'abaana baabwe baliba balamu era balikomawo. “Ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu nsi y'e Misiri ne mu Assiriya, mbaleete mu nsi y'e Gileyaadi, ne mu Lebanooni, wonna wajjule abantu. “Bwe baliba bayita mu nnyanja ey'okubonaabona, nze Mukama ndikuba amayengo. N'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira. Assiriya eyeekulumbaza eritoowazibwa. N'obuyinza bwa Misiri buliggwaawo. Ndiwa abantu bange amaanyi. Balinsinza era balimpulira.” Mukama ye ayogedde. Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo. Mukube ebiwoobe mmwe emiberosi, kubanga emivule gigudde, emiti emirungi ennyo gizikiriziddwa! Mukube ebiwoobe mmwe emyera gy'e Basani! Kubanga ekibira ekiwanvu kitemeddwa. Abafuzi bakuba ebiwoobe kubanga ekitiibwa kyabwe kizikiriziddwa! Empologoma zisindogoma, kubanga ebisaka mwe zisula eby'omu Yorudaani bizikiriziddwa. Mukama Katonda wange yaŋŋamba nti: “Lunda endiga ez'okuttibwa. Abazigula, bazitta ne batabonerezebwa. Batunda ennyama, ne bagamba nti: ‘Mukama atenderezebwe, kubanga tugaggawadde.’ Abasumba baazo nabo bennyini tebazisaasira.” Mukama agamba nti: “Sirisaasira nate muntu n'omu ku nsi. Ndiwaayo abantu bonna mu buyinza bw'abafuzi baabwe. Abafuzi abo balibonyaabonya ensi, era siriginunula mu buyinza bwabwe.” Abasuubuzi b'endiga banfuula omusumba, ne nnunda endiga ez'okuttibwa. Ne nkwata emiggo ebiri. Ogumu ne ngutuuma erinnya “Mukisa”. Omulala ne ngutuuma erinnya “Kwegatta”, ne nnunda endiga. Ne neetamwa abasumba abalala basatu abankyawa, ne mbagoba mu mwezi gumu. Awo ne ŋŋamba endiga nti: “Sikyabalunda. Ezo ezinaafa, zife. Ezinaazikirizibwa, zizikirizibwe. Ezo ezinaasigalawo ziryaŋŋane.” Awo ne nkwata omuggo gwange oguyitibwa “Mukisa”, ne ngumenyamu, okumenyawo endagaano, Mukama gye yakola n'amawanga gonna. Endagaano n'emenyebwawo ku lunaku olwo. Awo abasuubuzi b'endiga abaali bantunuulira, ne bategeera nga Mukama yali ayogerera mu ebyo bye nkoze. Ne mbagamba nti: “Oba mwagala, mumpe empeera yange. Oba temwagala, mugisigaze.” Ne bansasula ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, nga ye mpeera yange. Mukama n'aŋŋamba nti: “Bisuulire omubumbi.” Ne ntwala ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, omuwendo gwe baalamula nti gwe gungyaamu, ne mbisuula mu ggwanika ly'Essinzizo. Awo ne mmenyamu omuggo ogwokubiri oguyitibwa “Kwegatta”, okwegatta kwa Buyudaaya ne Yisirayeli ne kuggwaawo. Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ddamu okukola omulimu gw'obusumba. Naye ku mulundi guno, okole ng'omusumba atagasa, kubanga nteekawo omusumba anaalundanga endiga, naye taalabirirenga ezo ezigenda okutuukibwako akabi, wadde okunoonya ezo ezibuze. Era tajjanjabenga ezo ezirwadde, wadde okuliisa ezo ennamu, wabula anaalyangamu ezo ezassava, era alizinuulako ebinuulo. Zimusanze omusumba atagasa, ayabulira endiga! Ekitala kifumite omukono gwe, n'eriiso lye erya ddyo! Omukono gwe gukale, n'eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!” Buno bwe bubaka obufa ku Yisirayeli, obuva eri Mukama, eyabamba eggulu, eyatonda ensi, era eyawa abantu obulamu. Agamba nti: “Ndifuula Yerusaalemu ng'eggiraasi y'omwenge. Amawanga agakyetoolodde galiginywa, ne gatagatta ng'abatamiivu. Bwe galizingiza Yerusaalemu, ebibuga ebirala byonna eby'omu Buyudaaya nabyo biriba bizingiziddwa. Naye ekiseera kirituuka, ne nfuula Yerusaalemu ng'ejjinja ezzito, buli ggwanga eririgezaako okulisitula, lirirumizibwa nnyo, era amawanga gonna ku nsi galyegatta okukirwanyisa. Mu kiseera ekyo, nditiisa embalaasi zaabwe zonna, n'abazeebagala bonna ndibasuula eddalu. Ndirabirira abantu b'omu Buyudaaya, naye ndiziba amaaso g'embalaasi z'abalabe baabwe. Olwo ebika ebiri mu Buyudaaya birigambagana nti: ‘Mukama Katonda Nnannyinimagye, awa abatuuze b'omu Buyudaaya amaanyi.’ “Mu kiseera ekyo, ebika ebiri mu Buyudaaya ndibifuula ng'omuliro ogukoleezeddwa ku kibira, oba ku binywa by'eŋŋaano. Ebika ebyo birisaanyaawo amawanga gonna agabyetoolodde. Abantu b'omu Yerusaalemu balikibeeramu mirembe. “Nze Mukama, ndisooka kuwa ggye lya Buyudaaya obuwanguzi, ekitiibwa bazzukulu ba Dawudi n'abantu b'omu Yerusaalemu kye balifuna, kireme kusinga ekyo abalala ab'omu Buyudaaya kye balifuna. Mu kiseera ekyo, nze Mukama ndikuuma abo abali mu Yerusaalemu. Aliba asingayo okuba omunafu mu bo, alifuuka wa maanyi nga Dawudi bwe yali. Bazzukulu ba Dawudi balibakulembera nga malayika wa Mukama, nga Katonda yennyini. Mu kiseera ekyo ndizikiriza buli ggwanga eririgezaako okulumba Yerusaalemu. “Bazzukulu ba Dawudi n'abantu abalala ab'omu Yerusaalemu ndibajjuza omwoyo omusaasizi n'ogw'okwegayirira. Balitunuulira oyo gwe baafumita, era balimukungubagira ng'abakungubagira omwana waabwe omu yekka. Balimukaabira nnyo, ng'abakaabira mutabani waabwe omuggulanda. Mu kiseera ekyo okukungubaga kuliba kungi mu Yerusaalemu, ng'okukungubagira Adadurimmoni mu Lusenyi lw'e Megiddo. Ensi eno erikungubaga, buli maka gakungubage lwago: ab'omu maka agasibuka mu Dawudi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe; ab'omu maka agasibuka mu Natani lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe; ab'omu maka agasibuka mu Leevi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe; ab'omu maka agasibuka mu Simeeyi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe. N'ab'omu maka amalala gonna balikungubaga lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, oluzzi luliggulibwawo okutukuza bazzukulu ba Dawudi n'abantu b'omu Yerusaalemu, banaazibweko ebibi byabwe, era n'obwonoonefu. Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Mu kiseera ekyo, ndiggyawo mu nsi eyo amannya g'ebyo bye basinza ebitali Katonda, era tegaliddayo kujjukirwa. Era ndiggyawo mu nsi abalanzi, n'omwoyo ogutali mulongoofu. Bwe walibaawo akyayagala okulanga, kitaawe ne nnyina balimugamba nti ateekwa okuttibwa, kubanga agamba nti ayogera mu linnya lya Mukama, sso ng'alimba. Bw'aliragula, kitaawe ne nnyina bennyini balimufumita ne bamutta. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli mulanzi alikwatibwa ensonyi olw'okulabikirwa kwe era n'okulanga. Talyambala munagiro gwe okulimba abantu. Naye aligamba nti: ‘Nze siri mulanzi. Ndi mulimi. Ettaka bwe bugagga bwange okuva mu buto bwange.’ Bwe walibaawo amubuuza nti: ‘Ebiwundu ebyo ebiri mu bibatu byaki?’ Aliddamu nti: ‘Nabifumitibwa mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Situka ggwe ekitala olwanyise omusumba wange, ali ku lusegere lwange. Tema omusumba endiga zisaasaane. Ndigololera omukono gwange ku bato. Awo mu nsi yonna, ebitundu ebyokusatu bibiri birifa, ekimu ekyokusatu kye kiriwonawo. Ndigeza ekimu ekyokusatu ekyo, ne mbatukuza nga ffeeza bw'atukuzibwa mu muliro. Ndibageza nga zaabu bw'agezebwa. Olwo balinsaba ne mbaddamu. Ndibategeeza nti bantu bange, nabo ne baatula nti: ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ” Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lujja. Olwo ebintu by'omu Yerusaalemu birinyagibwa, ne bigabanibwa nga mulaba. Mukama alikuŋŋaanya wamu amawanga okulwanyisa Yerusaalemu. Ekibuga kiriwangulwa, ennyumba ne zinyagibwamu ebintu, n'abakazi ne bakwatibwa lwa mpaka. Abantu kimu kyakubiri balitwalibwa mu busibe, naye abalisigalawo tebaliggyibwa mu kibuga. Awo Mukama aligenda n'alwanyisa amawanga ago, nga bwe yalwana mu ntalo ez'edda. Mu kiseera ekyo, aliyimirira ku lusozi oluyitibwa Olusozi olw'Emizayiti mu buvanjuba bwa Yerusaalemu. Olusozi olwo lulibejjukamu wabiri, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, ne lubaamu ekiwonvu ekigazi ennyo. Ekitundu ekimu eky'olusozi kiriseeseetuka, ne kigenda mu bukiikakkono, ate ekitundu ekirala ne kigenda mu bukiikaddyo. Mulidduka nga muyita mu kiwonvu ekyo ekyawulamu olusozi. Mulidduka nga bajjajjammwe bwe badduka, ensi bwe yakankana mu mirembe gya Kabaka Wuzziya owa Buyudaaya. Mukama Katonda wange alijja ng'ali wamu n'abatukuvu bonna. Olunaku olwo bwe lulituuka, tewaliba nate bunnyogovu wadde olufu. Era tewaliba kizikiza. Bunaabanga misana bulijjo. Ne mu budde obw'ekiro, wanaabangawo ekitangaala ng'emisana. Mukama yekka ye amanyi ekyo we kiribeererawo. Olunaku olwo bwe lulituuka, amazzi amalungi galikulukuta nga gava mu Yerusaalemu. Ekitundu kyago ekimu kirikulukutira mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'ekirala mu nnyanja ey'ebugwanjuba. Galikulukuta mu biseera eby'ekyeya n'eby'enkuba. Olwo Mukama aliba Kabaka w'ensi zonna. Bonna gwe banaasinzanga era ye Mukama gwe banaamanyanga yekka. Ekitundu kyonna okuva e Geba okutuuka e Rimmoni mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemu kirifuulibwa kya museetwe. Yerusaalemu kiritumbiira ng'omunaala mu nsi ekyetoolodde. Ekibuga kiritandikira ku Mulyango gwa Benyamiini okutuuka ku Mulyango ogw'omu Nsonda, awaali omulyango ogwasooka, era okuva ku Munaala gwa Hananeeli, okutuuka ku masogolero g'emizabbibu aga kabaka. Abantu balibeera mirembe mu Yerusaalemu nga tebatiisibwatiisibwa kuzikirizibwa. Amawanga agalumba Yerusaalemu, Mukama aligalwaza ekirwadde ekibi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyayimiridde. Amaaso gaabwe galivundira mu bituli byago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe. Mu biseera ebyo, Mukama alibateekamu okutabuka era n'okutya okungi, buli omu n'akwata amuliraanye n'amulwanyisa. N'ab'omu Buyudaaya balirwanyisa Yerusaalemu. Obugagga bw'amawanga gonna bulikuŋŋaanyizibwa: zaabu ne ffeeza, n'ebyokwambala, nga bingi nnyo nnyini. Ekirwadde ekibi kirikwata n'embalaasi, n'ennyumbu, n'eŋŋamiya n'endogoyi era n'ensolo zonna mu lusiisira lw'abalabe. Olwo bonna abalisigalawo ku b'amawanga agazze okulwanyisa Yerusaalemu, banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama Nnannyinimagye era Kabaka, n'okukuza Embaga ey'Ensiisira. Eggwanga eririgaana okwambuka e Yerusaalemu okusinza Mukama Nnannyinimagye era Kabaka, enkuba teritonnya mu lyo. Abamisiri bwe baligaana okukuza Embaga ey'Ensiisira, balikwatibwa ekirwadde kye kimu ekyo Mukama ky'alirwaza amawanga amalala agagaana okukuza Embaga ey'Ensiisira. Ekyo kye kibonerezo ekiriweebwa Misiri n'amawanga amalala gonna agataayambukenga kukuza Mbaga ey'Ensiisira. Mu nnaku ezo, wadde endege ezisibwa ku mbalaasi, ziriyolebwako nti: “Kyawuliddwa Mukama.” Entamu mu Ssinzizo ziriba ntukuvu ng'ebibya mu maaso g'alutaari. Entamu zonna mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna ziryawulirwa Mukama Nnannyinimagye, abantu abawaayo ebitambiro ne batoolanga ku zo ne bafumbamu ennyama ey'ekitambiro. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, tewaliba nate musuubuzi mu Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye. Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki okutegeeza Abayisirayeli. Mukama agamba abantu be nti: “Nabaagala. Naye ne mugamba nti: ‘Watwagala otya?’ Esawu ne Yakobo baali baaluganda. Naye nayagala Yakobo, Amo 1:11-12; Ob 1-14 ne nkyawa Esawu. Ensozi za Esawu nazifuula matongo, ensi ye ne ngiwa ebibe eby'omu ddungu.” Singa bazzukulu ba Edomu bagamba nti: “Ebibuga byaffe bizikiriziddwa, naye tujja kubizimba buggya,” Mukama Nnannyinimagye ajja kugamba nti: “Ka bazimbe, naye nja kubimenyawo. Banaayitibwanga ‘Eggwanga erikola ebibi’, era ‘Abantu Mukama b'asunguwalira ennaku zonna.’ ” Abayisirayeli baliraba kino, ne bagamba nti: “Mukama mukulu n'ebweru w'ensi ya Yisirayeli.” Mukama Nnannyinimagye agamba bakabona nti: “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza assaamu mukama we ekitiibwa. Kale oba nga ndi kitammwe, lwaki temunzisaamu kitiibwa? Era oba nga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya? Munnyooma, naye ne mubuuza nti: ‘Tukunyoomye tutya?’ Munnyoomye, kubanga muwaddeyo ku alutaari yange emigaati egyonoonese. Era mubuuza nti: ‘Tugyonoonye tutya?’ Mugyonoonye, kubanga mugamba nti: ‘Emmeeza ya Mukama si ya kitiibwa.’ Bwe muleeta ensolo ezizibye amaaso, oba ennema, oba endwadde okuzintambirira, mulowooza nti ekyo si kikyamu? Kale ensolo ng'ezo muzitonere abafuzi bammwe. Banaabasanyukira? Banaabasiima?” Kaakano mmwe bakabona, musabe Katonda atukwatirwe ekisa, kubanga mmwe mwavaako omutawaana. Waliwo ku mmwe gw'anaasiima? Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Singa nno omu ku mmwe aggalawo enzigi z'Essinzizo, ne mutakumira bwereere muliro ku alutaari yange! Sibasanyukira n'akatono, era sikkiriza birabo bye muntonera. Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, abantu banzisaamu ekitiibwa. Wonna wonna bannyookereza obubaane, era bampa ebitambiro ebirongoofu. Bonna banzisaamu ekitiibwa. Naye mmwe munnyooma, bwe mugamba nti: ‘Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'emmere yaakwo si ya kitiibwa.’ Mugamba nti: ‘Ebyo byonna tubikooye!’ Era ne mwesooza! Ensolo gye mwanyaga, oba ennema, oba endwadde, gye muleeta okuntonera. Mulowooza nti eyo nnyinza okugikkiriza? Oyo omukumpanya, eyeeyama okumpa ennume ye ennungi gy'alina mu kisibo kye, ate n'antambirira ennema, akolimirwe, kubanga nze ndi Kabaka mukulu, era abantu ab'omu mawanga gonna bantya.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Kino kye kiragiro kye mbawa mmwe bakabona: muteekwa okunzisaamu ekitiibwa mu ebyo bye mukola. Bwe mutaafengayo kuwulira bye ŋŋamba, ndibateekako ekikolimo, era nditeeka ekikolimo ku bye mufuna okubayimirizaawo. Ddala mmaze okubiteekako ekikolimo, kubanga ekiragiro kyange temukissaako mwoyo. Ndibonereza abaana bammwe, era ndisiiga mu maaso gammwe obusa bw'ensolo ze mutambidde, ne muggyibwawo wamu nabwo. Olwo mulimanya nga nze nabawa mmwe ekiragiro kino, endagaano gye nakola ne bakabona, bazzukulu ba Leevi, ereme kumenyebwa. “Mu ndagaano yange, nabasuubiza okubawa obulamu n'emirembe. Era nabibawa balyoke banzisengamu ekitiibwa. Mu biro ebyo, banzisangamu ekitiibwa era bantyanga. Baayigirizanga bituufu sso si bikyamu. Baabeeranga wamu nange mu ddembe, nga ba mpisa nnungi, era baalesangayo bangi okukola ebibi, kubanga mulimu gwa bakabona okuyigiriza abantu bammanye. Era abantu bandigenzenga gye bali okuyiga bye njagala bakole, kubanga be babaka ba Mukama Nnannyinimagye. “Naye mmwe bakabona, muvudde mu kkubo ettuufu ne muwaba. Bye muyigiriza bireetedde bangi okukola ebikyamu. Mumenya endagaano gye nakola nammwe. Kyenvudde mbafuula aba wansi era abanyoomebwa mu bantu bonna, kubanga temukola bye mbalagira, era bwe muba muyigiriza abantu bange, mukozesa kusosola.” Ffenna tetulina kitaffe omu? Katonda tali omu eyatutonda? Kale lwaki tuba abakuusa eri bannaffe? Era lwaki tunyooma endagaano, Katonda gye yakola ne bajjajjaffe? Abantu b'omu Buyudaaya bafuuse bakuusa, ne bakola ekyenyinyalwa mu Yerusaalemu ne mu Yisirayeli yonna. Boonoonye Essinzizo lya Mukama ly'ayagala. Bawasizza abakazi abasinza balubaale. Buli musajja eyakola ekyo, Mukama amuggye mu Bayisirayeli, era aleme kumukkiriza kuddamu kwetaba wamu na ba ggwanga lyaffe nga batonera Mukama Nnannyinimagye ebirabo. Ekirala kye mukola kye kino: alutaari ya Mukama mugitobya amaziga, nga mukaaba era nga mukuba ebiwoobe, kubanga Mukama takyasiima bye mumuleetera. Mwebuuza ekimugaana okubisiima. Tabisiima, kubanga mumenyeewo endagaano ey'obufumbo gye mwakola n'abakazi be mwawasa mu buvubuka bwammwe. Be bannammwe be mwakola nabo endagaano nga Mukama ye mujulirwa, naye ne mutaba beesigwa. Katonda teyatonda omuntu ng'alina omubiri n'omwoyo ogw'obulamu? Ky'ayagala kwe kumuzaalira abaana abamutya. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa eri omukazi gwe yawasa mu buvubuka bwe. Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Nkyawa okwawukana kw'abafumbo, ng'omusajja akola eky'obukambwe okugoba mukazi we. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa.” Mukooyezza Mukama n'ebigambo bye mwogera. Naye mwebuuza nti: “Tumukooyezza tutya?” Mumukooyezza nga mugamba nti: “Buli akola ebibi, aba mulungi mu maaso ga Mukama, era Mukama amusanyukira.” Oba nga mwebuuza nti: “Katonda omwenkanya ali ludda wa?” Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Nja kutuma omubaka wange okunjerulira ekkubo, era Mukama gwe munoonya, alijja mu Ssinzizo lye nga tebamanyiridde. N'omubaka gwe mulindirira, alijja n'alangirira endagaano yange.” Naye ani aliyinza okugumira olunaku lw'alijjirako? Era bw'alirabika, ani aliguma okuyimirira? Kubanga ali ng'omuliro ogutukuza ebyuma, era nga sabbuuni gwe boozesa. Alituula okusala omusango, ng'ali ng'oyo alongoosa ffeeza n'amutukuza. Alitukuza bazzukulu ba Leevi, balyoke bawengayo eri Mukama ebirabo ebituufu. Olwo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ebirabo bye bawaayo eri Mukama birimusanyusa, nga bwe gwali edda. Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndijja mu mmwe ne nsala omusango. Era amangwago ndirumiriza abalogo n'abenzi, n'abalayira eby'obulimba, n'abalyazaamaanya empeera y'abakozi, n'ababonyaabonya bannamwandu ne bamulekwa, n'abanyaga eby'abagwira, era ndirumiriza n'abo bonna abatanzisaamu kitiibwa. “Nze Mukama, sikyukakyuka, era mmwe bazzukulu ba Yakobo kyemuva mulema okumalibwawo. Mmwe, nga bajjajjammwe, muvudde ku biragiro byange, ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nja kudda gye muli. Naye mwebuuza nti: ‘Tukole ki okudda gy'oli?’ Si kituufu omuntu okunyaga ebya Katonda. Naye mmwe munnyagako ebyange, ate ne mubuuza nti: ‘Tubikunyagako tutya?’ Mubinnyagirako mu bitundu eby'ekkumi ne mu birabo bye muntonera. Muvumiriddwa, kubanga mmwe eggwanga eddamba munyaga ebyange. Muleete ebitundu eby'ekkumi ebijjuvu mu ggwanika ly'Essinzizo lyange, libeeremu emmere nnyingi. Mungeze mulabe oba nga siribaggulirawo ggulu, ne mbayiwako emikisa mingi nnyo. Sirireka biwuka kuzikiriza birime byammwe. N'emizabbibu mu nnimiro zammwe tegirirema kubala. Olwo abantu ab'omu mawanga gonna balibayita mmwe ba mukisa, kubanga ensi yammwe eriba nnungi okubeeramu.” Mukama agamba nti: “Munjogeddeko ebitali birungi. Naye mugamba nti: ‘Tukwogeddeko ki?’ Mwagamba nti: ‘Okuweereza Katonda tekigasa. Kigasa ki okukola by'alagira, oba okulaga Mukama Nnannyinimagye nti tunakuwadde? Era kaakano abo abeekulumbaza be tuyita ab'omukisa. Aboonoonyi tebakoma ku kya ku beera bulungi kyokka, naye era bakema Katonda ne batabonerezebwa.’ ” Awo abantu abatya Mukama banyumiza wamu, Mukama n'awuliriza, n'awulira bye boogera. Mu maaso ge ne wabaawo ekitabo ekyawandiikibwa okujjukirirako abo abamutya, era abamussaamu ekitiibwa. Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Baliba bantu bange. Ku lunaku lwe ndikolerako, baliba bange ddala. Ndibasaasira ng'omusajja bw'asaasira mutabani we amuweereza. Olwo muliddamu okulaba enjawulo wakati w'omutuukirivu n'omubi, wakati w'oyo ampeereza nze Katonda, n'oyo atampeereza.” Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Olunaku lujja, abo bonna abeekulumbaza era n'aboonoonyi lwe balyokebwa ng'ebisasiro. Ku lunaku olwo balyokebwa ne baggweerawo ddala, obutasigalawo wadde akatundu. Naye mmwe abanzisaamu ekitiibwa, obuyinza bwange obulokola bulivaayo, ne bubaakira ng'enjuba erina amaanyi agawonya mu kwaka kwayo. Muliba ba ddembe, ne mubuukabuuka ng'ennyana eziyimbuddwa mu kisibo. Ku lunaku lwe ndikolerako, muliwangula ababi, ne mubalinnyirira wansi w'ebigere byammwe, kubanga baliba bafuuse vvu. “Mujjukire ebyo Musa omuweereza wange bye yabayigiriza: amateeka n'ebiragiro, bye namuweera ku Lusozi Horebu, abituuse ku Bayisirayeli bonna. “Olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnatuuka, ndibatumira Eliya omulanzi. Alitabaganya bakitaabwe b'abaana n'abaana baabwe, nneme okujja okuzikiriza ensi yammwe.” Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, muzzukulu wa Dawudi, muzzukulu wa Aburahamu. Aburahamu yazaala Yisaaka, Yisaaka n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be, Yuda n'azaala Pereezi ne Zera mu Tamari; Pereezi n'azaala Hezirooni, Hezirooni n'azaala Raamu; Raamu n'azaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Naasoni, Naasoni n'azaala Salumooni; Salumooni n'azaala Bowaazi mu Rahabu, Bowaazi n'azaala Obedi mu Ruusi, Obedi n'azaala Yesse; Yesse n'azaala Dawudi Kabaka, Dawudi n'azaala Solomooni mu eyali muka Wuriya: Solomooni n'azaala Rehobowaamu, Rehobowaamu n'azaala Abiya, Abiya n'azaala Asa; Asa n'azaala Yehosafaati, Yehosafaati n'azaala Yoraamu, Yoraamu n'azaala Wuzziya; Wuzziya n'azaala Yotamu, Yotamu n'azaala Ahazi, Ahazi n'azaala Heezeekiya; Heezeekiya n'azaala Manasse, Manasse n'azaala Amoni, Amoni n'azaala Yosiya; Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biseera abantu ba Yisirayeli mwe baawaŋŋangusirizibwa e Babilooni. Nga bamaze okuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, Yekoniya n'azaala Seyalutiyeli, Seyalutiyeli n'azaala Zerubabbeeli; Zerubabbeeli n'azaala Abiwuudi, Abiwuudi n'azaala Eliyakimu, Eliyakimu n'azaala Azori; Azori n'azaala Sadoki, Sadoki n'azaala Akimu, Akimu n'azaala Eliwuudi; Eliwuudi n'azaala Eleyazaari, Eleyazaari n'azaala Matani, Matani n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yosefu bba Mariya, Mariya eyazaala Yesu ayitibwa Kristo. Kale nno emirembe gyonna, okuva ku Aburahamu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, emirembe kkumi n'ena; ate okuva ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena. Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Mariya nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yosefu, nga tebannafumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu. Awo Yosefu bba, kubanga yali muntu mulungi, n'atayagala kumuswaza, n'alowooza okumulekayo mu kyama. Yali akyalowooza ebyo, malayika wa Mukama n'amulabikira mu kirooto, n'amugamba nti: “Yosefu, muzzukulu wa Dawudi, leka kutya kutwala Mariya mukazi wo, kubanga ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu. Alizaala omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye wunyo alirokola abantu be mu bibi byabwe.” Ebyo byonna byabaawo, okutuukiriza Mukama kye yayogerera mu mulanzi nti: “Omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Erinnya lye, balimuyita Emmanweli” (eritegeeza nti: “Katonda ali naffe”). Yosefu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika bw'amulagidde: n'atwala mukazi we. Kyokka teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana, Yosefu n'atuuma omwana oyo erinnya lye Yesu. Awo Yesu bwe yazaalibwa e Betilehemu, ekibuga eky'omu Buyudaaya, mu kiseera ekyo nga Herode ye Kabaka, abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye ne bava ebuvanjuba, ne bajja e Yerusaalemu, ne babuuza nti: “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.” Herode kabaka bwe yawulira, ne yeeraliikirira, era n'abalala bonna mu Yerusaalemu ne beeraliikirira. N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abakugu abannyonnyola abantu amateeka, n'ababuuza nti: “Kristo wa kuzaalibwa wa?” Bo ne bamugamba nti: “Mu Betilehemu, ekibuga ky'omu Buyudaaya, kubanga bwe kityo bwe kyawandiikibwa omulanzi nti: ‘Naawe Betilehemu mu nsi ya Yuda, si ggwe osembayo mu balangira ba Yuda, kubanga mu ggwe mulivaamu omukulembeze, alirabirira abantu bange Yisirayeli.’ ” Awo Herode n'ayita mu kyama abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye, n'ababuuza n'obwegendereza ekiseera kyennyini emmunyeenye kye yalabikiramu. N'abasindika e Betilehemu, n'abagamba nti: “Mugende mubuulirize nnyo ku mwana oyo, era nga mumulabye, muntegeeze, nange ŋŋende mmusinze.” Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda. Awo ne baddamu okulaba emmunyeenye gye baalaba ebuvanjuba, n'ebakulembera okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awali omwana. Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka nnyo nnyini ddala. Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Mariya nnyina. Ne bafukamira ne basinza omwana, ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo: zaabu, obubaane n'ebyakawoowo ebiyitibwa mirra. Katonda bwe yabalabulira mu kirooto obutaddayo ewa Herode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe. Bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto, n'amugamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri, obeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo, kubanga Herode ajja okunoonya omwana okumutta.” Awo Yosefu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'alaga e Misiri. N'abeera eyo okutuusa Herode lwe yafa. Kino kyali bwe kityo, Mukama kye yayogerera mu mulanzi kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Nayita omwana wange ave mu Misiri.” Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye. Awo ekyo omulanzi Yeremiya kye yayogera ne kituukirira, bwe yagamba nti: “Mu Raama baawulira eddoboozi, okukaaba n'okukungubaga okungi, Raakeeli ng'akaabira abaana be era nga tayagala akubagizibwe, kubanga tebakyaliwo.” Awo Herode bwe yamala okufa, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto e Misiri, n'agamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, olage mu nsi ya Yisirayeli, kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.” Awo Yosefu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina, n'ajja mu nsi Yisirayeli. Kyokka bwe yawulira nti Arukyelawo ye kabaka wa Buyudaaya, ng'asikidde kitaawe Herode, n'atya okulaga eyo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, n'alaga mu kitundu ky'e Galilaaya. N'ajja n'abeera mu kabuga akayitibwa Nazaareeti. Kino kyaba bwe kityo, abalanzi kye baayogera kiryoke kituukirire nti: “Aliyitibwa Munnazareeti.” Mu nnaku ezo, Yowanne Omubatiza n'ajja mu ddungu ery'e Buyudaaya, n'ategeeza abantu nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.” Yowanne ye wuuyo Yisaaya omulanzi gw'ayogerako nti: “Waliwo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge.’ ” Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale. Abantu baavanga e Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu kitundu ekiriraanye Omugga Yorudaani, ne bajja gy'ali. Ne baatula ebibi byabwe, n'ababatiza mu mugga Yorudaani. Bwe yalaba ng'Abafarisaayo bangi n'Abasaddukaayo bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? Mukole bikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe. Era muleke kweyinula nga mugamba nti: ‘Tulina kitaffe Aburahamu.’ Kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abaana ng'abaggya mu mayinja gano. Mufaanaanyirizibwa n'emiti: kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro. Nze mbabatiza na mazzi okulaga nti mwenenyezza, kyokka oyo anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, sisaanira na kukwata ngatto ze. Oyo alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro. Akutte mu ngalo olugali, ayawule empeke n'ebisusunku, empeke azikuŋŋaanyize mu tterekero, ate byo ebisusunku abyokye n'omuliro ogutazikira.” Awo Yesu n'ava e Galilaaya, n'atuuka ku Mugga Yorudaani eri Yowanne, abatizibwe Yowanne. Kyokka Yowanne n'agezaako okumuziyiza ng'agamba nti: “Nze nanditeekeddwa okubatizibwa ggwe, naye ate ggwe ojja gye ndi?” Yesu n'amuddamu nti: “Leka kibe bwe kityo kaakano, kubanga mu ngeri eno tujja kutuukiriza ekyo Katonda ky'ayagala.” Awo Yowanne n'akkiriza. Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangwago n'ava mu mazzi, awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye. Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa era gwe nsiimira ddala.” Luk 9:35 Awo Mwoyo Mutuukirivu n'atwala Yesu mu ddungu okukemebwa Sitaani. Yesu n'amalayo ennaku amakumi ana nga talya emisana n'ekiro. Bwe zaggwaako, enjala n'emuluma. Omukemi n'ajja n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo, Katonda ky'ayogera.’ ” Awo Sitaani n'atwala Yesu mu Kibuga Ekitukuvu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Essinzizo, n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Katonda aliragira bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja.’ ” Yesu n'amuddamu nti: “Era kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” Sitaani ate n'atwala Yesu ku lusozi oluwanvu ennyo, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi, n'ekitiibwa kyabwo. N'amugamba nti: “Ebyo byonna nja kubikuwa, singa ofukamira n'onsinza.” Awo Yesu n'agamba Sitaani nti: “Vvaawo Sitaani! Kyawandiikibwa nti: ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ” Awo Sitaani n'aleka Yesu, bamalayika ne bajja ne bamuweereza. Awo Yesu bwe yawulira nga Yowanne aggaliddwa mu kkomera, n'agenda e Galilaaya. N'aleka Nazaareeti, n'ajja n'abeera e Kafarunawumu, ekiri ku nnyanja mu kitundu kya Zebbulooni ne Nafutaali. Kino kyaba bwe kityo, omulanzi kye yalanga kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Ensi ya Zebbulooni, n'ensi ya Nafutaali, etunuulidde ennyanja, emitala wa Yorudaani, Galilaaya ey'ab'amawanga amalala! Abantu abaabeeranga mu kizikiza balabye ekitangaala ekingi. N'abaabeeranga mu nsi y'olumbe ne mu kisiikirize kyalwo, ekitangaala kibaakidde.” Okuva olwo, Yesu n'atandika okutegeeza abantu n'okubagamba nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.” Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba abooluganda babiri, abavubi: Simooni ayitibwa Peetero, ne muganda we Andereya, nga batega akatimba mu nnyanja. N'abagamba nti: “Mujje muyitenga nange, ndibafuula abavubi b'abantu.” Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bagenda naye. Bwe yatambulako okuva awo, n'alaba abooluganda babiri abalala: Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo. Baali mu lyato ne kitaabwe Zebedaayo, nga baddaabiriza obutimba bwabwe. Yesu n'abayita. Amangwago ne baleka awo obutimba ne kitaabwe, ne bagenda ne Yesu. Awo Yesu n'atambula Galilaaya yonna ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'ategeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Obwakabaka bwa Katonda, era ng'awonya obulwadde bwonna n'obuyongobevu bwonna mu bantu. Ettutumu lye ne libuna mu Siriya mwonna. Ne bamuleetera abalwadde ab'endwadde eza buli ngeri, n'abaalina buli ekibabonyaabonya, n'abaliko emyoyo emibi, n'ab'ensimbu, n'abakonvubye, bonna n'abawonya. Abantu bangi nnyo ne bajja gy'ali, nga bava mu Galilaaya ne mu kitundu ky'e Dekapoli, ne mu Kibuga Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya, era n'emitala wa Yorudaani. Awo Yesu bwe yalaba abantu abangi bwe batyo, n'ayambuka ku lusozi. Bwe yamala okutuula, abayigirizwa be ne bajja w'ali, n'atandika okubayigiriza, n'agamba nti: “Ba mukisa abeesiga Katonda yekka okubayamba: kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe. “Ba mukisa abakungubaga; kubanga abo balikubagizibwa. “Ba mukisa abateefu; kubanga abo baliweebwa ensi, Katonda gye yabasuubiza. “Ba mukisa abalumwa enjala n'ennyonta ey'okukola Katonda by'ayagala: kubanga abo balikkusibwa. “Ba mukisa ab'ekisa; kubanga abo balikwatirwa ekisa. “Ba mukisa ab'omutima omulongoofu; kubanga abo baliraba Katonda. “Ba mukisa abatabaganya; kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda. “Ba mukisa abayigganyizibwa olw'okukola Katonda by'ayagala; kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe. “Muli ba mukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayirizanga buli kigambo kibi nga babalanga nze. Musanyuke, mujaganye, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. N'abalanzi abaasooka mmwe okubaawo, bwe batyo bwe baayigganyizibwa. “Mmwe munnyo gw'ensi. Naye singa omunnyo gusaabulukuka, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Guba tegukyagasa, wabula gusuulibwa wabweru, abantu ne bagulinnyirira. “Mmwe kitangaala ky'ensi. Ekibuga ekizimbiddwa ku lusozi tekiyinza kukisibwa. Era tebakoleeza ttaala ne bagikweka mu kibbo, wabula bagiwanika ku kikondo, n'emulisa bonna abali mu nnyumba. Ekitangaala kyammwe kiteekwa okwakira bwe kityo abantu, balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke batendereze Kitammwe ali mu ggulu. “Muleke kulowooza nti najja kudibya Mateeka oba ebyo abalanzi bye bayigiriza. Sajja kubidibya, wabula okubituukiriza. Mazima mbagamba nti eggulu n'ensi nga bikyaliwo, ennukuta emu, wadde akatonnyeze akamu tekalidibizibwa mu Mateeka, okutuusa byonna lwe birituukirira. “Kale nno buli adibya erimu ku mateeka ago, wadde agasinga obutono, era n'ayigiriza bw'atyo abantu, aliyitibwa asembayo mu Bwakabaka obw'omu ggulu. Kyokka oyo akwata Amateeka, n'ayigiriza n'abalala okugakwata, aliyitibwa mukulu mu Bwakabaka obw'omu ggulu. Mbagamba nti: bwe mutaabenga beesigwa okusinga abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo mu kukola Katonda by'ayagala, temuliyingira Bwakabaka bwa mu ggulu. “Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti: ‘Tottanga muntu. Alitta omuntu, aliwozesebwa.’ Naye nze mbagamba mmwe nti: buli muntu asunguwalira muganda we, aliwozesebwa. Oyo ayita muganda we ‘Ekitagasa’, alireetebwa mu maaso g'olukiiko olukulu. Ate aliyita muganda we ‘Omusirusiru’, asaanira okusuulibwa mu muliro ogutazikira. “Kale nno bw'obanga oleeta ekirabo kyo ku alutaari, n'ojjuukirira eyo nga muganda wo aliko ekigambo ky'akwemulugunyiza, leka awo ekirabo kyo, mu maaso ga alutaari, ogende, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo, oweeyo ekirabo kyo. “Bw'oba ng'ogenda n'omuntu akuwawaabira, tabagana naye mangu nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'osuulibwa mu kkomera. Mazima nkugamba nti omwo tolivaamu okutuusa lw'olisasula ssente esembayo. “Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Toyendanga.’ Naye nze mbagamba mmwe nti: buli atunuulira omukazi olw'okumwegomba, ng'amwenzeeko mu mutima gwe. Singa eriiso lyo erya ddyo likukozesa ekibi, liggyeemu, olisuule wala. Kikugasa okufiirwa ekimu ku bitundu by'omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gusuulibwa mu muliro ogutazikira. Era singa omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ekibi, gutemeko, ogusuule wala. Kikugasa okufiirwa ekimu ku bitundu by'omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gusuulibwa mu muliro ogutazikira. “Baagambibwa era nti: ‘Buli agoba mukazi we, amuwanga ebbaluwa ekakasa nti amugobye!’ Naye nze mbagamba mmwe nti buli agoba mukazi we, okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, aba amusudde mu bwenzi. N'oyo awasa gwe bagobye, aba ayenze. “Era mwawulira abantu edda bwe baagambibwa nti: ‘Tolayiranga bya bulimba, naye by'osuubizza Mukama ng'olayira, obituukirizanga.’ Naye nze mbagamba mmwe obutalayiranga n'akatono: newaakubadde okulayira eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda, newaakubadde ensi, kubanga Katonda gy'ateekako ebigere bye. Temulayiranga wadde Yerusaalemu, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu. Era tolayiranga newaakubadde omutwe gwo, kubanga oluviiri olumu toyinza kulufuula lweru oba luddugavu. Mugambenga nti: ‘Weewaawo,’ oba nti ‘Si weewaawo’ Ebisinga ku ebyo biva mu Mubi. “Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Eriiso ligattibwa liiso, erinnyo ligattibwa linnyo.’ Naye nze mbagamba mmwe nti: temuziyizanga mubi, wabula omuntu bw'akukubanga ku ttama erya ddyo, omukyusizanga n'eddala. “Omuntu ayagala okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekkooti. Era buli akuwalirizanga okutambula naye kilomita emu, otambulanga naye kilomita bbiri. Akusabanga omuwanga, era ayagala okukwewolako, tomwegobangako. “Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Oyagalanga munno, n'okyawa omulabe wo.’ Naye nze mbagamba mmwe nti: mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya, mulyoke mube abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza abalungi n'ababi, era atonnyeseza enkuba abakola obulungi n'abakola obubi. “Kale singa munaayagalanga abo nammwe ababaagala, mulifuna mpeera ki? Abasolooza b'omusolo nabo si bwe bakola? Era singa munaalamusanga baganda bammwe bokka, kye mukoze ekyeyongeddeko okusinga eky'abalala kiruwa? Abantu ab'ensi nabo si kye bakola? “Kale nno mmwe mubeerenga batuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu. “Mwekuume obutakolanga bikolwa byammwe ebirungi mu maaso g'abantu balyoke babalabe, kubanga bwe mukola bwe mutyo, Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera. Kale nno bw'ogabiranga abaavu, teweeyimbiriranga ng'abakuusa bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye. Naye ggwe bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo kye gukola. Ky'ogabidde abaavu kibe kya kyama, Kitaawo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera. “Era bwe mubanga musinza Katonda, temubanga ng'abakuusa, kubanga baagala okusinza Katonda nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, abantu balyoke babalabe. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye. Naye ggwe bw'obanga osinza Katonda, oyingiranga mu kisenge kyo, n'oggalawo oluggi, n'olyoka osinza Katonda mu kyama, Kitaawo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera. “Bwe mubangako kye musaba Katonda, temumalanga googera bigambo bingi ng'abantu ab'ensi bwe bakola, abalowooza nti banaawulirwa lwa bigambo byabwe ebingi. Muleme nno kufaanana nga bo. Kitammwe amanyi bye mwetaaga, nga temunnaba na kumusaba. “Kale nno Katonda mumusabanga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo lyatulwe nga bwe liri ettukuvu. Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Otuwe leero emmere gye twetaaga. Otusonyiwe ebibi byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abakola ebitulumya. Totuleka kukemebwa, naye otuwonye omubi.’ “Bwe munaasonyiwanga abantu ensobi zaabwe, Kitammwe ali mu ggulu nammwe anaabasonyiwanga. Kyokka bwe mutaasonyiwenga bantu, nammwe Kitammwe taabasonyiwenga nsobi zammwe. “Bwe musiibanga, temubanga ng'abakuusa, abanakuwala ku maaso. Boonoona endabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nti basiiba. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye. Naye ggwe bw'osiibanga, onyirizanga omutwe gwo, n'onaaba amaaso go, abantu baleme kukulaba nti osiiba, wabula Kitaawo atalabika ye aba akulaba. Era Kitaawo oyo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera. “Temweterekeranga bugagga ku nsi kuno kwe bwonoonerwa ennyenje n'obutalagge, n'ababbi kwe basima ne babba, naye mweterekere obugagga mu ggulu, gye butayonoonerwa nnyenje wadde obutalagge, era ababbi gye batasima ne babba. Kubanga obugagga bwo gye buba, n'omutima gwo gye guba. “Ettaala y'omubiri lye liiso. Eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu. Naye eriiso lyo bwe litaba ddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekizikiza. Kale obutangaavu mu ggwe bwe buba ekizikiza, ekizikiza ekyo kiryenkana wa! “Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri. Oba alikyawa omu n'ayagala omulala, oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda, ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi. “Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga kye munaalya ne kye munaanywa okukuuma obulamu bwammwe, newaakubadde kye munaayambaza emibiri gyammwe. Obulamu si bwa muwendo okusinga emmere? N'omubiri si gwa muwendo okusinga ebyokwambala? Mutunuulire ebinyonyi: tebisiga, tebikungula era tebitereka. Naye Kitammwe ali mu ggulu abiwa emmere. Mmwe temubisinga nnyo? Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku buwanvu bw'obulamu bwe? “Lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mutunuulire amalanga ag'omu ttale: tegakola mulimu, wadde okuluka engoye. Naye mbagamba nti: newaakubadde Solomooni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go. Oba nga Katonda ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale oguliwo olwa leero, ate enkeera ne gusuulibwa ku kikoomi, talisingawo nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? “Kale temweraliikiriranga nga mugamba nti: ‘Tunaalya ki,’ oba nti: ‘Tunaanywa ki,’ oba nti ‘Tunaayambala ki?’ Ebyo byonna abantu ab'ensi bye beemalirako okunoonya. Mmwe Kitammwe amanyi nti ebyo byonna mubyetaaga. Naye okusingira ddala, mwemalirenga ku Bwakabaka bwe, ne ku by'ayagala mukole, ebyo byonna nabyo biribaweebwa. Kale temweraliikiriranga biribaawo jjo. Olunaku olwa jjo luliba n'ebyeraliikirirwa ebyalwo. Buli lunaku lubaako emitawaana egimala. “Temusalanga musango, nammwe guleme kubasalirwa. Kubanga, nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa. Era ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe. Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo? Oba ogamba otya muganda wo nti: ‘Leka nkuggye akasubi ku liiso,’ sso nga ku liiso eriryo kuliko ekisiki? Mukuusa ggwe, sooka oggye ekisiki ku liiso eriryo, olwo olyoke osobole okulaba obulungi, n'okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo. “Ekitukuvu temukiwanga mbwa, sikulwa nga zibakyukira ne zibaluma. Era amayinja gammwe ag'omuwendo temugasuulanga mu maaso ga mbizzi, sikulwa nga zigalinnyirira. “Musabe, muliweebwa. Munoonye, mulizuula. Mukonkone ku luggi, muliggulirwawo, kubanga buli asaba afuna, oyo anoonya azuula, n'oyo akonkona ku luggi aggulirwawo. Ani ku mmwe awa omwana we ejjinja ng'amusabye omugaati, oba amuwa omusota ng'amusabye ekyennyanja? Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebirungi abo ababimusaba? “Kale nno byonna bye mwagala abalala babakolere mmwe, nammwe mubibakolerenga. Ekyo Amateeka n'enjigiriza y'abalanzi kye bitegeeza. “Muyingirire mu muzigo omufunda, kubanga omuzigo oguyingira mu kuzikirira gwo mugazi, n'ekkubo erituukayo ddene, era bangi abaliyitamu. Omuzigo oguyingira mu bulamu mufunda, n'ekkubo erituukayo lya kanyigo, n'abali zuula batono. “Mwekuume abalanzi ab'obulimba, abajja gye muli nga kungulu bafaanana ng'endiga, sso nga munda gye misege eminyazi. Mulibategeerera ku bikolwa byabwe. Abantu emizabbibu baginoga ku kawule, oba emitiini baginoga ku busaana? “Omuti omulungi gubala ebibala birungi, naye omuti omubi gubala ebibala bibi. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, ne gusuulibwa mu muliro. “Bwe kityo nno, ku bikolwa byabwe kwe mulibategeerera. “Omuntu addiŋŋana okumpita obuyisi nti: ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira Obwakabaka obw'omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala. Ku lunaku luli, bangi baliŋŋamba nti: ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwayigirizanga mu linnya lyo? Tetwagobanga emyoyo emibi ku bantu nga tukozesa erinnya lyo? Era tetwakolanga ebyamagero bingi mu linnya lyo?’ Nze ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe. Muve we ndi mmwe abajeemu.’ “Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'abikolerako, aliba ng'omusajja ow'amagezi, eyazimba ennyumba ye ku lwazi, Enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba ennyumba eyo, sso n'etegwa, kubanga yazimbibwa ku lwazi. “Ate buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'atabikolerako, aliba ng'omusajja omusirusiru, eyazimba ennyumba ye ku musenyu. Enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba ennyumba eyo, n'egwa, n'emenyekerawo ddala.” Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebyo, ekibiina ky'abantu ne kyewuunya engeri gye yayigirizaamu, kubanga yayigiriza nga nnannyini buyinza, sso si ng'abannyonnyozi b'amateeka. Yesu bwe yava ku lusozi, ekibiina ky'abantu ne kimu goberera. Awo omugenge n'ajja gy'ali n'amusinza, n'agamba nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.” Yesu n'agolola omukono n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, wona.” Amangwago ebigenge ne bimuwonako. Yesu n'amugamba nti: “Laba, tobuulirako muntu n'omu, wabula genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.” Yesu bwe yayingira mu Kibuga Kafarunawumu, Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira ng'agamba nti: “Ssebo, omuddu wange ali waka, obulwadde bumugongobazizza, alumizibwa nnyo.” Yesu n'amugamba nti: “Ka njije, mmuwonye.” Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale n'addamu nti: “Ssebo, sisaanira, ggwe okuyingira mu nnyumba yange, wabula yogera bwogezi kigambo, omuddu wange anaawona. Nange ndi muntu mutwalibwa, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti ‘Genda’, agenda; n'omulala nti ‘Jjangu’, ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino’, akikola.” Yesu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti: sisanganga alina kukkiriza nga kuno wadde mu bantu ba Yisirayeli! Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne batuula ku mbaga ne Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo mu Bwakabaka obw'omu ggulu, naye abo abandibubaddemu, ne bagoberwa ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.” Awo Yesu n'agamba Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale nti: “Genda, kikukolerwe nga bw'okkirizza.” Omuddu n'awona mu kaseera ako. Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n'alaba nnyina wa muka Peetero ng'ali ku ndiri, omusujja gumuluma. N'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuwonako, n'agolokoka, n'aweereza Yesu. Obudde nga buwungedde, ne baleetera Yesu abantu bangi abaliko emyoyo emibi, n'agibagobako ng'agiboggolera, era bonna abaali balwadde, n'abawonya. Ekyo kyali bwe kityo, omulanzi Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Ye yennyini yatwala obuyongobevu bwaffe, n'aggyawo endwadde zaffe.” Yesu bwe yalaba ng'abantu bangi nnyo bamwetoolodde, n'alagira nti: “Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja.” Awo omunnyonnyozi w'amateeka omu n'ajja, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, nnaayitanga naawe gy'onoogendanga yonna.” Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu. Naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.” Omuntu omulala, omu ku bayigirizwa be, n'amugamba nti: “Ssebo, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” Kyokka Yesu n'amugamba nti: “Yita nange, leka abo abali ng'abafu, baziike abafu baabwe.” Awo Yesu n'asaabala mu lyato, abayigirizwa be ne ba genda naye. Omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, amayengo ne gabikka eryato. Yesu yali yeebase. Abayigirizwa be ne basembera w'ali, ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Mukama waffe, tuwonye, tufa!” Yesu n'abagamba nti: “Lwaki mutidde? Nga mulina okukkiriza kutono!” N'agolokoka, n'alagira omuyaga n'amayengo okukkakkana, ennyanja n'eteekera ddala. Bonna ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Olaba n'omuyaga n'amayengo bimuwulira!” Awo Yesu bwe yatuuka emitala w'ennyanja, mu nsi y'Abagadara, abantu babiri abaliko emyoyo emibi, ne bamusisinkana nga bava mu mpuku eziziikibwamu abafu. Abasajja bano baali bakambwe nnyo, nga tewali muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. Ne bawowoggana nga bagamba nti: “Otuvunaana ki, ggwe Omwana wa Katonda? Ozze okutubonyaabonya ng'ekiseera tekinnatuuka?” Waaliwo eggana ddene ery'embizzi nga zeesuddeko akabanga okuva we baali, nga zirya. Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu nti: “Oba ng'otugoba ku bantu bano tusindike mu ggana ly'embizzi.” Yesu n'agigamba nti: “Mugende.” Ne gibavaako, ne giyingira mu mbizzi. Eggana lyonna ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifiira mu mazzi. Abaali bazirabirira ne badduka, ne balaga mu kibuga, ne bannyonnyola byonna, n'ebikwata ku bali abaabaddeko emyoyo emibi. Bonna ne bava mu kibuga okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba, ne bamwegayirira ave mu kitundu kyabwe. Awo Yesu n'asaabala mu lyato, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe. Ne bamuleetera omuntu akonvubye. Baamuleeta agalamidde ku katanda. Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba akonvubye nti: “Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo mbikusonyiye.” Awo abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ne bagambagana nti: “Ono avvoola Katonda.” Yesu bwe yalaba ebirowoozo byabwe, n'agamba nti: “Lwaki mulowooza obubi mu mitima gyammwe? Ekisingako obwangu kye kiruwa, okugamba nti: ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira otambule?’ Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira, weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.” N'ayimirira, n'addayo ewaabwe. Abantu bwe baalaba ekyo, ne batya, ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkana awo. Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaba omuntu ayitibwa Matayo, ng'atudde we basolooleza omusolo. N'amugamba nti: “Yitanga nange.” Matayo n'asituka, n'amugoberera. Awo olwatuuka, Yesu bwe yali mu nnyumba ng'atudde okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi ne bajja, ne batuula ne Yesu era n'abayigirizwa be okulya. Abafarisaayo bwe baalaba ekyo, ne bagamba abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki Omuyigiriza wammwe aliira wamu n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?” Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Naye mugende mwetegereze amakulu g'ekigambo kino nti: ‘Ekisa kye njagala sso si kitambiro.’ Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.” Awo abayigirizwa ba Yowanne ne bajja eri Yesu, ne babuuza nti: “Lwaki ffe, n'Abafarisaayo tusiiba emirundi mingi, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?” Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza kunakuwala ng'awasizza omugole akyali nabo. Naye ekiseera kijja, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo nno balisiiba. “Omuntu tatunga mu lugoye lukadde kiwero kiggya ekitannayozebwamu, kubanga kiyuza olugoye, ekituli ne kyeyongera obunene. Era omwenge ogw'emizabbibu omusu, tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya, byombi lwe bikuumibwa obulungi.” Yesu yali akyabagamba ebyo, omukungu omu n'ajja n'amufukaamirira, n'agamba nti: “Muwala wange yaakafa, naye jjangu omukwateko, anaalamuka.” Awo Yesu n'asituka, n'agenda naye, wamu n'abayigirizwa be. Omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky'omusaayi okumala emyaka kkumi n'ebiri, n'ajja emabega wa Yesu, n'amukwata ku lukugiro lw'ekyambalo kye: kubanga yagamba mu mutima gwe nti: “Waakiri ne bwe nnaakwata ku kyambalo kye, nja kuwona.” Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti: “Omuwala, guma, owonye olw'okukkiriza kwo.” Omukazi n'awona mu kaseera ako. Yesu bwe yatuuka ku nnyumba y'omukungu, n'alaba abafuuwa endere n'abantu bangi nga baaziirana, n'agamba nti: “Muveewo. Omuwala tafudde, wabula yeebase.” Ne bamusekerera. Abantu bwe baamala okugobebwawo, Yesu n'ayingira, n'akwata omuwala ku mukono, omuwala n'ayimirira. Amawulire ago ne gabuna mu nsi eyo yonna. Yesu bwe yava eyo, bamuzibe babiri ne bamugoberera nga baleekaana, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, tusaasire!” Yesu bwe yatuuka mu nnyumba, bamuzibe abo ne bajja w'ali, n'ababuuza nti: “Mukkiriza nga nnyinza okukola kino?” Ne bamuddamu nti: “Weewaawo, Ssebo!” Awo n'akwata ku maaso gaabwe, n'agamba nti: “Kibakolerwe nga bwe mukkirizza.” Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti: “Temubuulirako muntu n'omu!” Naye bo ne bafuluma, ne basaasaanya mu nsi eyo yonna amawulire agafa ku Yesu. Abo bwe baali bafuluma, ne wabaawo abaamuleetera kasiru, ng'aliko omwoyo omubi. Yesu bwe yamugobaako omwoyo omubi, kasiru n'ayogera. Abantu ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ekiri nga kino tekirabikangako mu Yisirayeli!” Naye Abafarisaayo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ng'akozesa buyinza bwa mukulu waagyo.” Yesu n'ayitaayita mu bibuga byonna ne mu byalo, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'ategeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Obwakabaka, era ng'awonya abantu obulwadde bwonna n'obuyongobevu bwonna. Bwe yalaba abantu enkumu, n'abakwatirwa ekisa, kubanga baali basobeddwa, nga bali ng'endiga ezitalina musumba. N'alyoka agamba abayigirizwa be nti: “Eby'okukungula bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe nnannyini bya kukungula asindike abakozi mu by'okukungula bye.” Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abawa obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu, n'okuwonyanga abantu endwadde zonna n'obuyongobevu bwonna. Amannya g'abatume ekkumi n'ababiri ge gano: omubereberye, Simooni Peetero, ne Andereya muganda we; ne Yakobo, ne muganda we Yowanne, batabani ba Zebedaayo; ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Tomasi, ne Matayo omusolooza w'omusolo; ne Yakobo mutabani wa Alufaayo; ne Taddaayo, ne Simooni Omulwanirizi w'eggwanga lye, ne Yuda Yisikaryoti, eyalyamu Yesu olukwe. Abo ekkumi n'ababiri Yesu n'abatuma, n'abakuutira ng'abagamba nti: “Temugenda mu b'amawanga amalala, era temuyingira mu bibuga bya Basamariya. Naye mugende eri abantu ba Yisirayeli abaabula. Mugende mutegeeze abantu nti: ‘Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.’ Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, muwonye abagenge balongooke, mugobe emyoyo emibi ku bantu. Mwaweebwa buweebwa, nammwe mugabe. Temutwala zaabu newaakubadde ffeeza, newaakubadde ssente ez'ekikomo mu nsawo zammwe, newaakubadde ensawo ey'olugendo, newaakubadde ekkanzu eyookubiri, newaakubadde engatto, wadde omuggo: kubanga omukozi asaanira okuweebwa bye yeetaaga. “Buli kibuga na buli kyalo kye muyingiramu, munoonye omuntu ayagala okubaaniriza, musule ewuwe okutuusa lwe muliva mu kifo ekyo. Bwe muyingira mu nnyumba, mugambe nti: ‘Emirembe gibe n'abantu b'omu nnyumba eno.’ Singa abantu ab'omu nnyumba eyo babaaniriza, emirembe gye mubaagalizza girisigala nabo. Naye bwe batalibaaniriza, emirembe gye mubaagalizza giridda gye muli. Singa bagaana okubaaniriza mu nnyumba oba mu kibuga, bwe mubanga muvaayo, mwekunkumulangako n'enfuufu eba ebakutte ku bigere. Mazima mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, ensi y'e Sodoma ne Gomora eriddirwamu okusinga ekibuga ekyo. “Mwekkaanye: nze mbatuma nga muli ng'endiga mu misege wakati. Kale nno mube beegendereza ng'emisota, era mube ng'amayiba obutaba na bukuusa. Mwerinde, kubanga walibaawo abantu abalibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Era balibakubira mu makuŋŋaaniro gaabwe. Mulitwalibwa mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, mutuuse ku bo ne ku b'amawanga amalala Amawulire Amalungi. Naye bwe babakwatanga ne babawaayo, temweraliikiriranga nti: Tunaayogera tutya, oba nti: Tunaayogera ki? Muliweebwa mu kaseera ako, kye mulyogera, kubanga si mmwe mulyogera, wabula Mwoyo wa Kitammwe ye alyogerera mu mmwe. “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera abazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa. Mmwe, abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Kyokka oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa. Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala. Mazima mbagamba nti: temulimalayo bibuga bya Yisirayeli nga Omwana w'Omuntu tannajja. “Ayigirizibwa tasinga amuyigiriza, n'omuddu tasinga mukama we. Ayigirizibwa kimumala okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga nnannyinimu bamuyise Beeluzebuli, ab'omu maka ge kiki kye batalibayita! “Kale nno temubatyanga, kubanga buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu. Kye mbabuulira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana. Kye muwulira mu kaama, mukirangiriranga ku ntikko z'ennyumba. “Era temutyanga abo abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo. Naye mutyenga Katonda ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu muliro ogutazikira. “Enkazaluggya bbiri tezigula ssente emu? Naye tewali n'emu ku zo egwa ku ttaka nga Kitammwe tayagadde. N'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zonna mbale. Kale nno temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi. “Buli anjatula mu maaso g'abantu, nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Kyokka oyo anneegaana mu maaso g'abantu, nange ndimwegaana mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. “Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi. Sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. Najja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we. Era abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye. “Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga bw'ayagala nze, tansaanira. Era oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga bw'ayagala nze, tansaanira. N'oyo ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tansaanira. Agezaako okutaasa obulamu bwe, alibufiirwa. Afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa. “Ayaniriza mmwe ng'ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, ng'ayanirizza oyo eyantuma. Ayaniriza omulanzi olw'okuba nga mulanzi, alifuna empeera ng'ey'omulanzi. Era ayaniriza omuntu akola Katonda by'ayagala, olw'okuba ng'akola Katonda by'ayagala, alifuna empeera ng'ey'omuntu akola Katonda by'ayagala. Mazima mbagamba nti: buli awa omu ku bano abato eggiraasi y'amazzi obuzzi amannyogovu okunywa, olw'okuba nga muyigirizwa wange, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.” Awo olwatuuka, Yesu bwe yamaliriza by'alagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'ava mu kifo ekyo, n'agenda okuyigiriza n'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu bibuga byabwe. Yowanne Omubatiza bwe yali mu kkomera, n'awulira Kristo by'akola, n'atuma abamu ku bayigirizwa be okumubuuza nti: “Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?” Yesu n'abaddamu nti: “Mugende mutegeeze Yowanne bye muwulira ne bye mulaba: ababadde bamuzibe balaba, ababadde abalema batambula, abagenge bawonyezebwa, ababadde bakiggala bawulira, abafu bazuukizibwa, abaavu bategeezebwa Amawulire Amalungi. Wa mukisa atambuusabuusaamu.” Abo bwe baagenda, Yesu n'atandika okutegeeza abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo? Kale mwagenda kulaba ki? Abo abambala engoye ezinekaaneka? Abo abambala engoye ezinekaaneka, basangibwa mu mbiri za bakabaka. Kale mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Ddala, mbagamba nti asinga n'omulanzi. Kubanga Yowanne ono, ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba, nze ntuma omubaka wange akukulembere, ng'akwerulira ekkubo gy'olaga.’ “Mazima mbagamba nti Yowanne asinga abantu bonna ekitiibwa abaali bazaaliddwa. Kyokka oyo asembayo okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu, asinga Yowanne ono ekitiibwa. “Okuva Yowanne Omubatiza lwe yajja, okutuusa kati, Obwakabaka obw'omu ggulu bulwanyisibwa n'amaanyi, era ab'amaanyi babunyaga. Amateeka n'abalanzi bonna, okutuusa Yowanne lwe yajja, baalanga ebifa ku Bwakabaka. Era oba nga mwagala okumanya, Yowanne ye Eliya ateekwa okujja. Alina amatu ag'okuwulira, awulire. “Abantu ab'omulembe guno nnaabageraageranya na ki? Bafaanana ng'abaana abato abatuula mu katale, ne bakoowoola bannaabwe, ne bagamba nti: ‘Twabafuuyira endere, ne mutazina! Twakuba ebiwoobe, ne mutakaaba!’ “Yowanne Omubatiza bwe yajja ng'asiiba era nga tanywa, ne bagamba nti: ‘Aliko omwoyo omubi.’ Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne bagamba nti: ‘Omuntu ono wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’ Wabula abo bonna abakolera ku magezi ga Katonda, bakakasa nti matuufu.” Awo Yesu n'atandika okunenya ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga abantu baamu tebeenenya. N'agamba nti: “Oli wa kubonaabona ggwe Koraziini! Ennaku za kukulaba ggwe Betusayida! Ebyamagero ebyakolerwa mu mmwe, singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne Sidoni, abantu baayo bandibadde baayambala dda ebikutiya, ne beesiiga n'evvu, okulaga nti beenenyezza Naye mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Tiiro ne Sidoni biribonerezebwa katono okusinga mmwe. “Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumira okutuuka mu bire? Nedda, ogenda kussibwa wansi emagombe: kubanga ebyamagero ebyakolerwa mu ggwe, singa byali bikoleddwa mu Sodoma, singa weekiri ne kaakano. Naye mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Sodoma kiribonerezebwa katono okusinga ggwe.” Mu kiseera ekyo, Yesu n'agamba nti: “Nkutendereza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abategeera, n'obimanyisa abaana abato. Weewaawo Kitange, kubanga bw'otyo bwe wayagala. “Kitange byonna yabimpa, ate nze Mwana tewali ammanyi okuggyako Kitange, era tewali amanyi Kitange okuggyako nze Mwana, n'oyo gwe mba njagadde amanye Kitange. “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakoze ne mukoowa n'abazitoowereddwa, nze nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era mwetoowaze mu mwoyo, mulizuulira emyoyo gyammwe ekiwummulo. Kubanga ekikoligo kye mbawa kyangu, n'omugugu gwe mbatikka si muzito.” Mu biseera ebyo, Yesu n'ayita mu nnimiro z'eŋŋaano ku lunaku olwa Sabbaato. Abayigirizwa be baali balumwa enjala, ne batandika okunoga ku birimba, ne balya. Abafarisaayo abamu bwe baalaba ekyo, ne bagamba Yesu nti: “Laba, abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Sabbaato!” Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako Dawudi kye yakola, ye ne be yali nabo bwe baalumwa enjala? Yayingira mu Ssinzizo, n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda, sso nga gyali tegimukkirizibwa, wadde abo be yali nabo, okugirya, wabula nga gikkirizibwa bakabona bokka. Oba temusomangako mu Mateeka nti: ku Sabbaato, mu Ssinzizo, bakabona bamenya etteeka lya Sabbaato ne bataba na musango? Naye mbagamba nti asinga Essinzizo ekitiibwa ali wano. Era singa mumanyi amakulu g'ekigambo kino nti: ‘Ekisa kye njagala naye si kitambiro,’ temwandinenyezza batalina musango. Kubanga Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.” Awo Yesu n'ava mu kifo ekyo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe. Mwalimu omuntu ow'omukono ogukaze. Waaliwo abantu abamu abaali baagala okuwawaabira Yesu. Ne bamubuuza nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato?” Yesu n'abaddamu nti: “Ani ku mmwe aliba n'endiga ye emu, n'egwa mu bunnya ku Sabbaato, ataligikwata n'agiggyamu? Omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? N'olwekyo kikkirizibwa okukolera omuntu obulungi ku Sabbaato.” Awo n'agamba omuntu oyo nti: “Omukono gwo gugolole.” N'agugolola, ne guwonera ddala, ne guba ng'omulala. Abafarisaayo bwe baafuluma, ne bakuba olukiiko bateese nga bwe banaazikiriza Yesu. Yesu bwe yamanya olukwe olw'okumutta, n'ava mu kifo ekyo. Abantu bangi ne bamugoberera, n'awonya abalwadde bonna. N'abagaana okumwatuukiriza, ekyo omulanzi Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Ono ye muweereza wange gwe nalondamu, gwe njagala, asanyusa omutima gwange. Ndimuteekako Mwoyo wange, n'ategeeza amawanga eby'amazima. Taliyomba, talireekaana, era tewaliba awulira ddoboozi lye mu nguudo. Olumuli olumenyese talirukutula, n'enfuuzi enyooka taligizikiza. Alituusa amazima ku buwanguzi. Amawanga gonna galisuubira mu linnya lye.” Awo ne baleetera Yesu omuntu aliko omwoyo omubi, nga muzibe era nga kasiru, n'amuwonya. N'asobola okwogera n'okulaba. Abantu bonna ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono ye Muzzukulu wa Dawudi?” Naye Abafarisaayo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ono agoba emyoyo emibi ku bantu, nga takozesa buyinza bwa mulala, wabula obwa Beeluzebuli, omukulu waagyo.” Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Era ne bwe kiba kibuga oba maka, abantu baamu bwe beesalamu ne balwanagana, bisasika. “Ne Sitaani bw'agoba Sitaani ku bantu, aba yeesazeemu. Kale obwakabaka bwe bunaasigalawo butya? Era oba nga nze ngoba emyoyo emibi ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli, abagoberezi bammwe bo bagigoba nga bakozesa buyinza bw'ani? Kale nno bo be bajja okubasalira mmwe omusango. Naye oba nga emyoyo emibi ngigoba ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Mwoyo wa Katonda, kino kitegeeza nti Obwakabaka bwa Katonda butuuse mu mmwe. “Omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi n'okunyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kusiba ow'amaanyi oyo? Olwo lw'asobola okunyaga eby'omu nnyumba ye. “Ataba ku ludda lwange, mulabe wange. Era atannyamba kukuŋŋaanya, asaasaanya. Kyenva mbagamba nti abantu bayinza okusonyiyibwa ebibi byonna, n'okusonyiyibwa okwogera obubi mu ngeri yonna. Kyokka buli avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa. Era buli ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w'Omuntu, alisonyiyibwa. Kyokka oyo ayogera obubi ku Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa newaakubadde mu mulembe guno, wadde mu mulembe ogugenda okujja. “Omuti muguyite mulungi, ng'ebibala byagwo birungi, muguyite mubi, ng'ebibala byagwo bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo. Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, muyinza mutya okwogera ebirungi nga muli babi? Kubanga ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera. Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi; n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe okukola ebibi. “Era mbagamba nti buli kigambo ekitaliimu mugaso abantu kye boogera, balikiwoza ku lunaku olulisalirwako emisango. Kubanga ku bigambo byo kw'olisalirwa omusango: n'osinga, oba ne gukusalirwa okukusinga.” Awo abamu ku bannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, twagala okulaba akabonero k'otuwa, akakakasa obuyinza bwo.” Yesu n'abaddamu nti: “Abantu b'omulembe guno ababi, abava ku Katonda, basaba akabonero. Naye tewali kabonero kajja kubaweebwa, okuggyako akabonero ka Yona omulanzi. Kuba nga Yona bwe yabeera mu lubuto lw'ekyennyanja ennaku essatu, ekiro n'emisana, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu bw'aliba mu ttaka munda ennaku ssatu, ekiro n'emisana. “Abantu b'e Nineeve balisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, ne babalumiriza omusango okubasinga. Kubanga bo beenenya nga Yona abategeezezza ekigambo kya Katonda. Naye laba, asinga Yona ali wano. “Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo alisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, n'abalumiriza omusango okubasinga. Kubanga yava ku nkomerero y'ensi, n'ajja okuwuliriza ebigambo bya Solomooni eby'amagezi. Naye laba, asinga Solomooni ali wano. “Omwoyo omubi bwe guva ku muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi, nga gunoonya we gunaawummulira, ne gutazuulawo. Ne gugamba nti: ‘Nja kudda mu nnyumba yange mwe nava.’ Bwe gudda, gugisanga ng'eyereddwa era ng'etegekeddwa bulungi. Olwo ne gugenda ne guleeta emyoyo emibi emirala musanvu egigusinga obubi, ne giyingira ne gibeera omwo. Embeera y'omuntu oyo ey'oluvannyuma n'eba mbi okusinga eyasooka. Bwe kityo bwe kiriba ne ku bantu ab'omulembe guno omubi.” Yesu yali akyayogera n'ekibiina ky'abantu, baganda be ne nnyina ne bajja, ne bayimirira wabweru, nga baagala okwogera naye. Omuntu omu n'amugamba nti: “Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde wabweru, baagala okwogera naawe.” Yesu n'addamu oyo amubuulidde, n'agamba nti: “Aba muntu wa ngeri ki gwe mpita mmange, era baba bantu ba ngeri ki be mpita baganda bange?” N'agolola omukono eri abayigirizwa be n'agamba nti: “Mmange ne baganda bange be bano. Buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye aba muganda wange, ye aba mwannyinaze, ye aba mmange.” Ku lunaku olwo Yesu bwe yava mu nnyumba, n'alaga ku lubalama lw'Ennyanja, n'atuula. Abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira w'ali. Kyeyava asaabala mu lyato, n'atuula mu lyo, ekibiina ky'abantu kyonna ne kiyimirira ku lubalama. N'ayogera nabo bingi mu ngero, n'agamba nti: “Omusizi yagenda okusiga ensigo. Bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ebinyonyi ne bijja ne bizirya. Endala ne zigwa ku ttaka ery'oku lwazi, amangwago ne zimera, kubanga ettaka lyabuguumirira mangu olw'obutaba ggwanvu. Omusana bwe gwayaka ennyo, ne ziwotookerera; era olw'okuba ng'emirandira gyazo gyali tegisse nnyo wansi mu ttaka, ne zikala. Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Bwe gaakula, ne gazitta. N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zimera, ne zikula, ne zibala ebirimba. Ebimu ne bibaamu ensigo kikumi; ebirala, ensigo nkaaga, n'ebirala, ensigo amakumi asatu. Alina amatu, awulire.” Awo abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti: “Lwaki oyogera nabo mu ngero?” N'abaddamu nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebyama ebifa ku Bwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa. Kubanga buli alina aliweebwa, n'aba na bingi nnyo. Ate buli atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako. Kyenva njogera nabo mu ngero, kubanga batunula, naye tebalaba. Bawuliriza, naye tebawulira, era tebategeera. Era omulanzi Yisaaya kye yalanga, kituukirira ku bo, ekigamba nti: ‘Weewaawo muliwulira, naye temulitegeera. Weewaawo muliraba, naye temulyetegereza. Omutima gw'abantu bano gugubye, n'amatu gaabwe gazibikidde, n'amaaso gaabwe bagazibirizza. Sikulwa nga balaba n'amaaso, nga bategeera n'omutima, era nga bakyuka ne mbawonya.’ “Naye mmwe muli ba mukisa, kubanga amaaso gammwe galaba, n'amatu gammwe gawulira. Mazima mbagamba nti abalanzi bangi n'abantu abalungi beegomba okulaba bye mulaba ne batabiraba, n'okuwulira bye muwulira, ne batabiwulira. “Kale nno mmwe muwulire amakulu g'olugero lw'omusizi. Abo abawulira ekigambo ekifa ku Bwakabaka ne batakitegeera, ze nsigo ezaagwa ku mabbali g'ekkubo. Omubi ajja n'anyaga ekisigiddwa mu mitima gyabwe. Ensigo ezaagwa ku ttaka ery'oku lwazi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyaniriza n'essanyu. Naye olw'okuba bafaanana ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka, balwawo akaseera katono. Okubonyaabonyezebwa oba okuyigganyizibwa olw'ekigambo kya Katonda bwe kujja, amangwago nga baterebuka. Ensigo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwalimbibwa ebyobugagga, biziyiza ekigambo okubayamba okukola ebikolwa ebirungi. Ate ezo ezaagwa mu ttaka eddungi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda ne bakitegeera, ne bakola ebikolwa ebirungi: mu bamu ne byeyongera emirundi kikumi, mu balala emirundi nkaaga, ate mu balala, emirundi amakumi asatu.” Yesu n'abaleetera olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye. Kyokka abantu bwe baali nga beebase, omulabe we n'ajja, n'asiga mu ŋŋaano omuddo ogufaanana nga yo, n'agenda. Ebimera bwe byakula, ne bibala ebirimba, olwo omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano ne gulabika. Abaddu ba nnannyini nnimiro ne bajja ne bamugamba nti: ‘Ssebo, ensigo ennungi si gye wasiga mu nnimiro yo? Kale omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano gwava wa?’ N'abaddamu nti: ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu ne bamugamba nti: ‘Oyagala tugende tugukoolemu?’ N'agamba nti: ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukoolamu omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano, muyinza okukuuliramu n'eŋŋaano yennyini. Muleke byombi bikulire wamu okutuuka amakungula. Mu kiseera eky'amakungula, ndigamba abakunguzi nti: Musooke mukuŋŋaanye omuddo, mugusibe ebinywa gwokebwe, naye eŋŋaano mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ” Yesu n'abaleetera n'olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasiga mu nnimiro ye. Kano ke kasigo akasingira ddala obutono mu nsigo zonna. Naye bwe kamera ne kakula, kaba kanene okusinga ebimera eby'enva ebirala byonna. Ne kavaamu omuti, ebinyonyi ne bijja, ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.” Yesu n'abaleetera olugero olulala nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.” Yesu ebyo byonna abantu yabibabuulira mu ngero. Teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero. Yakolanga ekyo okutuukiriza omulanzi kye yayogera, ekigamba nti: “Ndyogera mu ngero; ndyatula ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.” Awo Yesu n'asiibula ekibiina ky'abantu, n'ayingira mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero lw'omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano ogwali mu nnimiro.” Yesu n'addamu nti: “Asiga ensigo ennungi, ye Mwana w'Omuntu. Ennimiro, ye nsi. Ensigo ennungi, be bantu ab'omu Bwakabaka bwa Katonda. Omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano, be bantu ab'Omubi. Ate omulabe eyagusiga, ye Sitaani. Amakungula, ye nkomerero y'ensi. Abakunguzi, be bamalayika. Kale nno ng'omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano bwe gukuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu nnimiro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. Omwana w'Omuntu alituma bamalayika be, ne baggya mu Bwakabaka bwe abo bonna abasuula abantu mu kibi, n'abamenyi b'amateeka, ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji. Olwo abantu abalungi balyakaayakana ng'enjuba mu Bwakabaka bwa Kitange. ‘Alina amatu, awulire.’ “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'ekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro. Omuntu bw'akizuula, n'akikweka, era olw'essanyu erimukutte, n'agenda n'atunda ebibye byonna by'alina, n'agula ennimiro eyo. “Obwakabaka obw'omu ggulu era bufaanaanyirizibwa n'omuntu omusuubuzi, anoonya amayinja ag'omuwendo. Bw'azuula ejjinja erimu ery'omuwendo ennyo, n'agenda n'atunda ebibye byonna by'alina, n'aligula. “Obwakabaka obw'omu ggulu era bufaanaanyirizibwa n'akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri. Bwe kajjula, ne bakasika okukatuusa ku lubalama. Ne batuula, ne balondamu ebirungi, ne babiteeka mu bisero, ebibi ne babisuula. Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. Bamalayika balijja ne baawula abantu ababi mu balungi, ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji. “Ebyo byonna mubitegedde?” Ne bamugamba nti: “Weewaawo.” N'abagamba nti: “Kale nno buli munnyonnyozi w'amateeka afuuse omuyigirizwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu, afaanaanyirizibwa n'omuntu alina ennyumba ye: aggya mu kisenge mw'atereka, ebintu ebiggya n'ebikadde.” Awo olwatuuka, Yesu bwe yamaliriza engero ezo, n'ava mu kifo ekyo, n'ajja mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe. Ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono amagezi gano yagaggya wa, n'eby'amaanyi by'akola? Ono si ye mwana w'omubazzi? Nnyina si ye ayitibwa Mariya? Ne baganda be si Yakobo ne Yosefu, ne Simooni ne Yuda? Ne bannyina bonna tebabeera kwaffe? Kale ebyo byonna abiggya wa?” Awo ne bamukwatirwa obuggya. Yesu n'abagamba nti: “Omulanzi assibwamu ekitiibwa wonna wonna, okuggyako mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.” Era teyakolerayo byamagero bingi, kubanga tebaalina kukkiriza. Mu kiseera ekyo, Herode omufuzi n'awulira ettutumu lya Yesu. N'agamba basajja be nti: “Ono ye Yowanne Omubatiza azuukidde, kyava aba n'obuyinza okukola ebyamagero.” Herode yali akutte Yowanne n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera, ng'agenderedde okusanyusa Herodiya, muka Filipo, muganda wa Herode. Kubanga Yowanne yagambanga Herode nti: “Tokkirizibwa kumusigula n'omufuula owuwo.” Herode n'ayagala okutta Yowanne, kyokka n'atya abantu, kubanga baali bamanyi nti Yowanne mulanzi. Ku lunaku lw'amazaalibwa ga Herode, muwala wa Herodiya n'azina mu maaso ga bonna. Herode n'asanyuka N'alayira n'okulayira, n'amusuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaamusaba. Omuwala n'akolera ku magezi nnyina ge yamuwa, n'agamba nti: “Mpa omutwe gwa Yowanne Omubatiza nga guteekeddwa wano ku ssowaani.” Kabaka n'anakuwala nnyo, kyokka olw'okubanga yali alayidde, ate nga n'abagenyi be bawulidde, n'alagira gumuweebwe. N'atuma mu kkomera ne batemako Yowanne omutwe. Ne baguleetera ku ssowaani, ne baguwa omuwala, ye n'agutwalira nnyina. Abayigirizwa ba Yowanne ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne baguziika. Ne bagenda ne babuulira Yesu. Awo Yesu bwe yawulira ebyo, n'ava mu kifo ekyo, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kifo eky'eddungu, asobole okuba yekka. Abantu bangi bwe baamanya, ne bava mu bibuga ne bamugoberera, nga bayita ku lukalu. Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba abantu bangi abakuŋŋaanye, n'abakwatirwa ekisa, n'awonya abalwadde baabwe. Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Ekifo kino kya ddungu, ate n'obudde buwungedde. Abantu basiibule, bagende beegulire emmere mu bubuga.” Yesu n'abagamba nti: “Tewali kibeetaagisa kugenda, mmwe muba mubawa emmere balye.” Ne bamugamba nti: “Tetulina kantu wano, okuggyako emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.” Yesu n'agamba nti: “Mubindeetere wano.” N'alagira abantu okutuula ku muddo, n'atoola emigaati etaano, n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso eri eggulu, ne yeebaza Katonda. N'amenyaamenya mu migaati, n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira abantu. Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri. Abo abaalya, baali abasajja ng'enkumi ttaano, awatali kubala bakazi na baana. Amangwago Yesu n'alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bamukulembere, bagende emitala w'ennyanja, nga ye akyasiibula abantu. Bwe yamala okusiibula abantu, n'ayambuka ku lusozi yekka okusinza Katonda. Obudde ne buwungeera nga Yesu ali eyo yekka. Abayigirizwa baali mu lyato ku nnyanja, eryato nga lisundibwa amayengo, kubanga omuyaga gwali gubafuluma mu maaso. Obudde bwali bunaatera okukya, Yesu n'ajja gye bali ng'atambula ku mazzi. Bwe baamulaba ng'atambula ku mazzi, ne bakwatibwa ensisi, ne bagamba nti: “Omuzimu!” Ne baleekaana olw'okutya. Amangwago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti: “Mugume omwoyo, ye Nze, temutya!” Awo Peetero n'amuddamu nti: “Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli nga ntambula ku mazzi.” Yesu n'agamba nti: “Jjangu.” Peetero n'ava mu lyato, n'atambula ku mazzi okugenda eri Yesu. Kyokka bwe yalaba omuyaga, n'atya. N'atandika okukka mu mazzi, n'aleekaana nti: “Mukama wange, mponya!” Amangwago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti: “Ggwe alina okukkiriza okutono! Lwaki obuusizzabuusizza?” Bombi bwe baasaabala mu lyato, omuyaga ne guggwaawo. Abaali mu lyato ne basinza Yesu nga bwe bagamba nti: “Ddala, oli Mwana wa Katonda!” Bwe baava ku nnyanja, ne batuuka mu kitundu eky'e Gennesareeti. Abantu baayo Yesu bwe baamutegeera, ne batuma mu kitundu ekyo kyonna, ne bamuleetera abalwadde bonna, ne bamwegayirira akkirize waakiri bakwate ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Era bonna abaakwatako, ne bawona. Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne bava e Yerusaalemu, ne bajja awali Yesu, ne bagamba nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebafa ku bulombolombo bwa bajjajjaffe? Bwe baba bagenda okulya emmere, tebanaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwe bulagira?” Yesu n'abaddamu nti: “Lwaki nammwe temufa ku kiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe? Kubanga Katonda yagamba nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’ era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’ Naye mmwe mugamba nti: ‘Buli ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye nandikuwadde okukuyamba, kiweereddwayo eri Katonda,’ aba takyawalirizibwa kuyamba kitaawe. Bwe mutyo mwadibya ekiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe. Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti: ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe, tegindiiko. N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu, kubanga ebigambo by'abantu obuntu bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’ ” Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Muwulirize era mwetegereze: ebyo omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo by'ayogera bye bizoonoona.” Awo abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Omanyi ng'Abafarisaayo banyiize bwe bawulidde ekigambo ekyo?” Yesu n'addamu nti: “Buli kimera ekitaasimbibwa Kitange ow'omu ggulu, kirisimbulwa. Mubaleke abo bakulembeze bamuzibe. Muzibe bw'akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu bunnya.” Awo Peetero n'amuddamu nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero olwo.” Yesu n'agamba nti: “Nammwe temutegedde? Temulaba nti buli kintu ekiriibwa kigenda mu lubuto, mwe kiva ne kifuluma? Naye ebyogerwa biva mu mutima, era ebyo bye byonoona empisa z'omuntu. Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okwogera obubi ku balala. Bino bye byonoona empisa z'omuntu. Naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo ng'obulombolombo bwe bulagira, tekizoonoona.” Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaga mu kitundu ky'e Tiiro ne Sidoni. Omukazi Omukanaani, munnansi w'ekitundu ekyo, n'ajja gy'ali, n'aleekaana ng'agamba nti: “Nkwatirwa ekisa, Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi! Muwala wange aliko omwoyo omubi, gumubonyaabonya!” Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja w'ali ne bamwegayirira nti: “Mugobe, kubanga ajja atuleekaanira!” Yesu n'addamu nti: “Saatumibwa walala okuggyako eri abantu ba Yisirayeli abaabula.” Awo omukazi n'ajja n'asinza Yesu nga bw'agamba nti: “Ssebo, nnyamba!” Yesu n'addamu nti: “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'esuulirwa obubwa.” Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'obubwa, bulya ku bukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baabwo.” Yesu n'amuddamu nti: “Mukazi wattu, olina okukkiriza kunene! Kikukolerwe nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona mu kiseera ekyo. Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'ajja ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'ayambuka ku lusozi n'atuula. Abantu bangi nnyo ne bajja w'ali nga baleese abalema, bamuzibe, abakonzibye, ne bakasiru, n'abalwadde abalala bangi. Ne babassa kumpi n'ebigere bye, n'abawonya. Abantu ne bawuniikirira nga balaba ababadde bakasiru boogera, ababadde bakonzibye balamu, ababadde abalema batambula, ababadde bamuzibe balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli. Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya. Saagala kubasiibula ng'enjala ebaluma, sikulwa nga bazirikira mu kkubo.” Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Mu ddungu tunaggya wa emmere emala okukkusa abantu abangi bwe batyo?” Yesu n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti: “Musanvu, n'obwennyanja mpa we buzira.” Awo n'alagira abantu batuule wansi. N'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be, abayigirizwa ne babigabira abantu. Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo musanvu. Abo abaalya, baali abasajja enkumi nnya, awatali kubala bakazi na baana. Awo Yesu n'asiibula abantu, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kitundu ky'e Magadani. Awo Abafarisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumukema. Ne bamusaba abawe akabonero akabalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda. Kyokka Yesu n'abaddamu nti: “Obudde bwe buba buwungeera, mugamba nti: ‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyuse.’ Ku makya, mugamba nti: ‘Olwaleero wanaabaayo omuyaga, kubanga eggulu limyuse, era lizimbagadde.’ Mumanyi okuvvuunula amakulu g'endabika y'eggulu, naye temusobola kutegeera bye mulaba mu kiseera kino! Abantu ab'omulembe guno ababi, era abaava ku Katonda, basaba akabonero, naye tebaliweebwa kabonero kalala, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abavaako n'agenda. Abayigirizwa bwe baatuuka emitala w'ennyanja, ne bajjukira nti tebaaleese migaati. Yesu n'abagamba nti: “Mulabuke, mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo.” Bo ne bagambagana nti: “Tetuleese migaati.” Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Mmwe abalina okukkiriza okutono, lwaki mugambagana nti temulina migaati? Temunnaba kutegeera, era temujjukira emigaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano, n'ebibbo bye mwakuŋŋaanya? Ate emigaati omusanvu egyakkusa abantu enkumi ennya? Kale lwaki temutegedde nti soogedde ku migaati, bwe mbagambye nti: Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo!” Olwo ne bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula kwekuuma Abafarisaayo n'Abasaddukaayo bye bayigiriza. Awo Yesu n'atuuka mu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba boogera ku Mwana w'Omuntu, bamuyita ani?” Ne baddamu nti: “Abamu bamuyita Yowanne Omubatiza, abalala bagamba nti: ye Eliya, ate abalala nti: Yeremiya, oba omu ku balanzi.” Awo ye n'ababuuza nti: “Naye mmwe mumpita ani?” Simooni Peetero n'amuddamu nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda Nnannyinibulamu.” Yesu n'amugamba nti: “Simooni, omwana wa Yona, oli wa mukisa! Kubanga omuntu si ye yakumanyisa ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu. Nange nkugamba nti: ggwe oli Peetero (ekitegeeza nti Lwazi), era ku lwazi luno, kwe ndizimbira ekibiina kyange eky'abakkiriza; n'amaanyi ag'emagombe tegalikisobola. Ndikuwa ebisumuluzo by'Obwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi, kirisibibwa mu ggulu; kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi, kirisumululwa mu ggulu.” Awo n'akuutira abayigirizwa obutabuulirako muntu nti Ye, ye Kristo. Okuva olwo, Yesu n'atandika okutegeeza abayigirizwa be nti ateekwa okugenda e Yerusaalemu, n'okubonyaabonyezebwa ennyo abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu. Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya, n'agamba nti: “Nedda, Mukama wange, ekyo tekirikutuukako n'akatono!” Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'agamba Peetero nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Oli nkonge mu kkubo lyange, kubanga ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!” Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe, n'angoberera. Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa, naye buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa. Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe? Tewali kintu na kimu muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe. Omwana w'Omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika be, awe buli muntu empeera ye, ng'asinziira ku ebyo buli muntu bye yakola. Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Omwana w'Omuntu ng'ajja mu Bwakabaka bwe.” Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, n'abooluganda Yakobo ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu. Awo endabika ye n'efuuka nga balaba. Amaaso ge ne gaakaayakana ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira. Musa ne Eliya ne balabika nga boogera naye. Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” Bwe yali ng'akyayogera, ekire ekitangalijja ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo. Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala, mumuwulirize.” Abayigirizwa bwe baawulira, ne batya nnyo, ne bagwa wansi nga beevuunise. Awo Yesu n'ajja we bali, n'abakwatako, n'agamba nti: “Muyimuke, muleke kutya!” Bwe baayimusa amaaso, ne batalaba muntu mulala, wabula Yesu yekka. Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.” Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki abannyonnyozi b'amateeka bagamba nti Eliya y'ateekwa okusooka okujja?” Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya y'ateekwa okusooka okujja, era alitereeza byonna. Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, abantu ne batamutegeera, era ne bamukolako byonna bye baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'Omuntu balimubonyaabonya.” Olwo abayigirizwa ne bategeera nti yali ayogera ku Yowanne Omubatiza. Bwe baatuuka awali ekibiina ky'abantu, omuntu omu n'ajja eri Yesu n'amufukaamirira, nga bw'agamba nti: “Ssebo, kwatirwa mutabani wange ekisa, kubanga mulwadde wa nsimbu, ali bubi nnyo. Emirundi mingi agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi. Namuleetedde abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.” Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere wano.” Awo Yesu n'aboggolera omwoyo omubi, ne guva ku mulenzi, n'awona mu kaseera ako. Abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama, ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?” Yesu n'abaddamu nti: “Kubanga temulina kukkiriza kumala. Mazima mbagamba nti: singa muba n'okukkiriza wadde okutono ng'akasigo ka kaladaali, muyinza okugamba olusozi luno nti: ‘Va wano, genda wali,’ ne lugenda, era tewali kiribalema. [ Naye omwoyo omubi ogw'engeri eno, tegugobeka ku muntu awatali kusaba Katonda era n'okusiba.”] Abayigirizwa bwe baakuŋŋaanira mu Galilaaya, Yesu n'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu, era bajja kumutta. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo. Yesu n'abayigirizwa be bwe batuuka e Kafarunawumu, abasolooza omusolo ogw'Essinzizo ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti: “Mukama wammwe tawa musolo gwa Ssinzizo?” N'addamu nti: “Awa.” Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Yesu n'amwesooka, n'agamba nti: “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi, empooza oba omusolo babiggya ku bantu ki? Ku baana baabwe, oba ku bantu balala?” Peetero n'addamu nti: “Ku balala.” Yesu n'amugamba nti: “N'olwekyo abaana tebateekwa kuwa. Naye obutabeesittaza, genda osuule eddobo mu nnyanja, ekyennyanja ky'onoosooka okukwasa, bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoosangamu ssente, ogitwale ogibawe, esasulire nze naawe.” Mu kaseera ako, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Kale ani asinga okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu?” Awo Yesu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza mu makkati gaabwe, n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti: bwe mutakyuka ne muba ng'abaana abato, temuliyingira Bwakabaka bwa mu ggulu. Kale nno buli eyeetoowaza ng'omwana ono omuto, ye asinga okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu. Era buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. “Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, asaanye okusibibwa ejjinja mu bulago, asuulibwe mu nnyanja ebuziba. Ensi ya kubonaabona olw'ebyo ebisuula abantu mu kibi. Bino tebirema kubaawo, kyokka omuntu abireeta, wa kubonaabona! “Singa omukono gwo oba okugulu kwo kukukozesa ekibi, kutemeko. Kirungi ofune obulamu, ng'oli wa mukono gumu oba wa kugulu kumu, okusinga lw'osigaza emikono gyombi oba amagulu gombi, naye n'osuulibwa mu muliro ogutazikira. Era singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu olisuule. Kirungi okufuna obulamu, ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, omuli omuliro ogutazikira. “Mwekkaanye: temunyoomanga n'omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe, baba bulijjo mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. [ Omwana w'Omuntu yaija okulokola abaabula.] “Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo n'ebula, taleka ekyenda mu omwenda ku nsozi, n'agenda anoonya eyo ebuze? Mazima mbagamba nti: ng'agizudde, asanyuka nnyo olw'eyo emu, okusinga olwa ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. Bwe kityo, Kitammwe ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire. “Muganda wo bw'akola ebikulumya, genda gy'ali omubuulire nga muli mwekka, ggwe naye. Singa akuwulira, olwo ng'okomezzaawo muganda wo oyo. Kyokka bw'atakuwulira, ddayo gy'ali ne munno omu oba babiri, olwo buli kigambo kiryoke kikakasibwe nga waliwo abajulirwa babiri oba basatu. Kyokka bw'agaana okubawulira, olwo tegeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Singa agaana okuwulira ekibiina ky'abakkiriza Kristo, omuyisanga ng'atalina kukkiriza, era ng'omusolooza w'omusolo. “Mazima mbagamba nti: kyonna kye mulisiba ku nsi, kirisibibwa mu ggulu. Era kyonna kye mulisumulula ku nsi, kirisumululwa mu ggulu. “Era mbagamba nti: ababiri ku mmwe bwe baneetabanga ku nsi, ne babaako kye basaba Kitange ali mu ggulu, alikibakolera, kubanga ababiri oba abasatu we baba nga bakuŋŋaanye ku lwange, nange mbaawo wamu nabo.” Awo Peetero n'ajja awali Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, emirundi emeka muganda wange gy'anaakolanga ebinnumya ne mmusonyiwa? Emirundi musanvu?” Yesu n'amuddamu nti: “Sikugamba nti emirundi musanvu, naye nti nsanvu emirundi musanvu. Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaanaanyirizibwa ne kabaka, eyayagala okuwozesa abaddu be ku bintu bye, bye baalina. Bwe yali ng'atandise okubawozesa, ne bamuleetera omu gw'abanja talanta omutwalo gumu. Kyokka teyalina nsimbi z'anaasasuza bbanja. N'olwekyo mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'e bintu bye byonna, ebbanja lisasulwe. Awo omuddu n'afukamira, n'amwegayirira ng'agamba nti: ‘Ŋŋumiikiriza, ndikusasula byonna.’ Mukama w'omuddu oyo n'amukwatirwa ekisa, n'amusonyiwa ebbanja, n'amuta. “Kyokka omuddu oyo bwe yafuluma, n'asanga muddu munne gw'abanja denaari kikumi. N'amugwamu bulago nga bw'agamba nti: ‘Sasula ebbanja lyange!’ Awo muddu munne n'agwa wansi, n'amwegayirira ng'agamba nti: ‘Ŋŋumiikiriza, ndikusasula.’ Ye n'atakkiriza, wabula n'agenda n'amuggalira mu kkomera, okutuusa lw'alimala okumusasula ebbanja. “Baddu banne bwe baalaba ebikoleddwa, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe byonna ebibaddewo. Awo mukama we n'amuyita, n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, nakusonyiye ebbanja lyonna kubanga wanneegayiridde. Kale naawe obadde togwanira kukwatirwa muddu munno kisa, nga nze bwe nakukwatiddwa ekisa?’ Mukama we n'asunguwala, n'amukwasa abaserikale bamubonyeebonye, okutuusa lw'alimala okusasula ebbanja lyonna.” Bw'atyo ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola mmwe, singa buli muntu tasonyiwa muganda we, mu mutima gwe. Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ava e Galilaaya, n'alaga mu kitundu ky'e Buyudaaya, emitala w'omugga Yorudaani. Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n'abawonyeza eyo. Abamu ku Bafarisaayo ne bagamba nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we, ng'amulanga buli nsonga yonna?” Yesu n'abaddamu nti: “Temusomangako nti olubereberye Katonda yatonda omusajja n'omukazi, Katonda n'agamba nti: ‘N'olwekyo omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n'abeera ne mukazi we, bombi ne baba omuntu omu?’ Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.” Abafarisaayo ne bamubuuza nti: “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja awe mukazi we ebbaluwa ekakasa bw'amugobye, olwo alyoke amweggyireko ddala?” Yesu n'abaddamu nti: “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe. Naye olubereberye, tekyali bwe kityo. Era mbagamba nti buli agoba mukazi we okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze.” Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Oba nga bwe biri bwe bityo wakati w'omusajja ne mukazi we, ekisinga butawasa.” Yesu n'abaddamu nti: “Si bonna abasiima ekigambo ekyo, wabula abo Katonda b'akiwa. Kubanga waliwo abalaawe, abaazaalibwa bwe batyo, waliwo abalaawe, abalaayibwa abantu, era waliwo abalaawe abeeraawa bokka olw'Obwakabaka obw'omu ggulu. Ayinza okukisiima akisiime.” Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko era abasabire eri Katonda. Kyokka abayigirizwa ne babaziyiza nga bababoggolera. Yesu n'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka obw'omu ggulu.” N'abakwatako, n'ava mu kifo ekyo. Awo omuntu omu n'ajja eri Yesu, n'amubuuza nti: “Muyigiriza, kirungi ki kye nteekwa okukola, okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu n'amuddamu nti: “Lwaki ombuuza ku kirungi? Omulungi ali Omu. Naye oba nga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro bya Katonda.” N'amubuuza nti: “Biruwa?” Yesu n'addamu nti: “Tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu. Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Era yagalanga muntu munno, nga bwe weeyagala ggwe wennyini.” Omuvubuka n'agamba Yesu nti: “Ebyo byonna nabituukiriza. Kiki ekikyambulako okukola?” Yesu n'amugamba nti: “Oba ng'oyagala okuba atuukiridde, genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.” Omuvubuka ono bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina ebyobugagga bingi. Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti: omugagga kirimubeerera kizibu okuyingira Obwakabaka obw'omu ggulu. Era mbagamba nti: kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.” Abayigirizwa bwe baawulira, ne bawuniikirira nnyo, ne bagamba nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?” Yesu n'abatunuulira n'agamba nti: “Kino abantu tebakiyinza, wabula Katonda ayinza byonna.” Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe byonna tulyoke tuyitenga naawe. Kale tulifuna ki?” Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti: Omwana w'Omuntu bw'alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa, nga byonna bizzibwa obuggya, nammwe abayita nange, mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, ne musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli. Era buli muntu eyaleka ennyumba oba baganda be, oba abaana, oba ebibanja ku lwange, alifuna ebisingawo obungi emirundi kikumi, n'aweebwa n'obulamu obutaggwaawo. Naye bangi ab'olubereberye, abaliba ab'oluvannyuma, era bangi ab'oluvannyuma, abaliba ab'olubereberye. “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu nnannyini nnimiro y'emizabbibu, eyakeera ku makya ennyo okunoonya abakozi ab'okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu. “Bwe yamala okukkiriziganya nabo okubasasula denaari emu olunaku, n'abasindika okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu. Era n'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde awo mu katale, nga tebalina kye bakola. N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu mukole, nnaabasasula ekibasaanira.’ Ne bagenda. N'afuluma nate ku ssaawa nga mukaaga, ne ku ssaawa nga mwenda, n'akola ekintu kye kimu. Era ne ku ssaawa nga kkumi n'emu n'afuluma, n'asanga abalala nga bayimiridde, n'ababuuza nti: ‘Lwaki muyimiridde wano olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’ “Ne bamuddamu nti: ‘Kubanga tewali yatututte kumukolera.’ N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey'emizabbibu.’ “Obudde bwe bwawungeera, nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba musajja we alabirira abakozi, nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe, ng'otandikira ku baasembyeyo okujja okukola, osembyeyo abaasoose ku mulimu.’ “Abo abaatandika okukola ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne basasulwa denaari emu buli omu. Ababereberye ku mulimu bwe bajja okusasulwa, ne balowooza nti banaafuna kinene okusinga ku kya bali kye bafunye. Naye nabo ne bafuna denaari emu buli omu. “Bwe baazifuna, ne beemulugunyiza nnannyini nnimiro, nga bagamba nti: ‘Bano abazze oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obasasula kye kimu nga ffe abaakoze omulimu olunaku lwonna, nga n'essana litwokya?’ Kyokka ye n'addamu omu ku bo nti: ‘Munnange, sikulyazaamaanyizza. Tewalagaanye nange denaari emu? Twala eyiyo, ogende. Njagadde okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe. Sikkirizibwa kukozesa byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya kubanga ndi mulungi?’ “Bwe batyo ab'oluvannyuma, baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye, baliba ab'oluvannyuma.” Yesu bwe yali ng'ayambuka e Yerusaalemu, n'azza ku bbali abayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti: “Laba twambuka e Yerusaalemu, era eyo Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa, era bamuweeyo mu b'amawanga amalala okumusekerera, n'okumukubisa embooko eriko amalobo agasuna, n'okumukomerera ku musaalaba. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.” Awo nnyina w'abatabani ba Zebedaayo n'ajja ne batabani be eri Yesu, n'amufukaamirira, n'abaako ky'amusaba. Yesu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” N'amuddamu nti: “Suubiza nti mu Bwakabaka bwo, batabani bange bano bombi, balituula nga bakuliraanye, omu ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.” Yesu n'addamu nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamuddamu nti: “Tusobola.” Yesu n'abagamba nti: “Ddala ekikopo kyange eky'okubonaabona mulikinywako. Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa Kitange.” Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira abooluganda bombi. Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali. N'abagamba nti “Mumanyi ng'abafuzi b'abantu ab'ensi baagala kuweerezebwa. Era ababa n'obuyinza, bafugisa bukambwe. Naye mu mmwe, si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne. Era buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe, ateekwa okuba omuddu wa bonna, okufaanana ng'Omwana w'Omuntu, atajjirira kuweerezebwa, wabula okuweereza, era n'okuwaayo obulamu bwe, ng'omutango okununula abangi.” Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga bava e Yeriko, ekibiina ky'abantu kinene ne kimugoberera. Bamuzibe babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, ne bawulira nti Yesu ayitawo, ne batandika okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!” Abantu ne bababoggolera basirike. Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!” Awo Yesu n'ayimirira n'abayita, n'ababuuza nti: “Mwagala mbakolere ki?” Ne baddamu nti: “Ssebo tuzibule amaaso.” Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe. Amangwago ne basobola okulaba, ne bagenda naye. Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali basemberedde ekibuga Yerusaalemu, nga batuuse e Betufaage, okumpi n'Olusozi olw'emiti Emizayiti, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri, n'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangwago, mujja kulaba endogoyi esibiddwa nga eri n'omwana gwayo. Muzisumulule, muzindeetere. Singa wabaawo abavunaana, mugamba nti: ‘Mukama waffe azeetaaga’, olwo ye ajja kuziweereza mangu.” Kino kyabaawo okutuukiriza ekyo omulanzi kye yayogera nti: “Mubuulire abantu b'e Siyooni nti: Laba, Kabaka wammwe ajja gye muli. Muteefu, era yeebagadde endogoyi, yeebagadde omwana gw'endogoyi.” Awo abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. Ne baleeta endogoyi n'omwana gwayo, ne bazissaako ekkooti zaabwe, ne bazeebagazaako Yesu. Abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne batema obutabi ku miti, ne babwaliira mu kkubo. Abantu abangi abaali bamukulembedde, era n'abo abaali bava emabega, ne baleekaana nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama aweereddwa omukisa! Mukama ali mu ggulu atenderezebwe!” Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemu, ekibuga kyonna ne kiyuuguuma. Abakirimu ne babuuza nti: “Oyo ani?” Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Ono ye mulanzi, Yesu ow'e Nazaareeti eky'e Galilaaya.” Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abo bonna abaali batundiramu, n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batundiramu enjiibwa. N'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.” Awo bamuzibe n'abalema ne bajja awali Yesu mu Ssinzizo, n'abawonya. Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baalaba ebyamagero bye yakola, era ne balaba abaana nga baleekaana mu Ssinzizo, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi atenderezebwe,” ne banyiiga. Ne bagamba nti: “Owulira abo bye bagamba?” Yesu n'abaddamu nti: “Weewaawo. Temusomangako ekyawandiikibwa ekigamba nti: ‘Wagunjula abaana abawere n'abayonka okuwa ettendo ettuufu?’ ” N'abaawukanako, n'afuluma ekibuga, n'alaga e Betaniya, n'asula eyo. Enkeera ku makya, Yesu bwe yali addayo mu kibuga, n'alumwa enjala. N'alengera omuti gumu omutiini ku mabbali g'ekkubo. N'agutuukako, n'atagusangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Toddangayo okubala ebibala emirembe gyonna!” Amangwago omutiini ne gukala. Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne beewuunya! Ne bagamba nti: “Omutiini gukaze gutya amangu?” Yesu n'abaddamu nti: “Mazima mbagamba nti singa muba n'okukkiriza nga temubuusabuusa, munaayinzanga okukola kye nkoze ku mutiini ogwo. Era si ekyo kyokka, naye munaayinzanga n'okugamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja,’ ne kituukirira. Era singa muba n'okukkiriza, byonna bye munaasabanga Katonda nga mumusinza, munaabifunanga.” Awo Yesu bwe yakomawo mu Ssinzizo, bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja w'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola bino? Era ani yakuwa obuyinza buno?” Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munaakinziramu, olwo nange nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola bino. Ani yatuma Yowanne okubatiza: Katonda, oba bantu?” Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tuddamu nti: ‘Katonda ye yamutuma’, ajja kutubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne ono temwamukkiriza?’ Ate singa tuddamu nti: ‘Abantu be baamutuma,’ tutya abantu: kubanga bonna bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.” Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bino. “Kale mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri, n'agenda eri omubereberye, n'amugamba nti: ‘Mwana wange, olwaleero genda okole mu nnimiro y'emizabbibu.’ Ye n'addamu nti: ‘Ŋŋaanye.’ Kyokka oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda n'akola. Kitaabwe era n'agenda eri owookubiri n'amulagira ekintu kye kimu. Ye n'addamu nti: ‘Ka ŋŋende, ssebo.’ Kyokka n'atagenda. Kale ani ku bombi eyakola ekyo kitaawe kye yayagala?” Ne baddamu nti: “Omubereberye.” Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya babasooka mmwe okuyingira Obwakabaka bwa Katonda, kubanga Yowanne Omubatiza yajja gye muli, n'abalaga ekkubo ettuufu, ne mutamukkiriza. Naye abasolooza b'omusolo ne bamalaaya, bo baamukkiriza. Ekyo mwakiraba, naye n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.” “Muwulire olugero olulala. Waaliwo omuntu ssemaka, eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala. Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma abaddu be eri abapangisa, bamuwe ebibala ebibye. Kyokka abapangisa ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, n'omulala ne bamukasuukirira amayinja. N'ayongera okutuma abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye. Era ne babakola ekintu kye kimu. Oluvannyuma n'abatumira omwana we ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamussaamu ekitiibwa.’ Naye abapangisa bwe baalaba omwana oyo, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika! Mujje tumutte, obusika buliba bwaffe.’ Ne bamukwata, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta. “Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, alikola atya abapangisa abo?” Ne bamuddamu nti: “Ababi abo alibazikiririza ddala, era ennimiro y'emizabbibu aligissaamu abapangisa abalala, abanaamuwanga ebibala mu kiseera ekituufu.” Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako ekyo ebyawandiikibwa kye bigamba? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro. Ekyo Mukama ye yakikola, ne tukiraba, ne tukyewuunya.’ “N'olwekyo mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako mmwe, ne buweebwa abantu abalikola ebikolwa ebibusaanira. [ Buli agwa ku jinja eryo, alimenyekamenyaka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.”] Bakabona abakulu n'Abafarisaayo bwe baawulira engero za Yesu, ne bategeera nti ayogedde ku bo. Ne bagezaako okumukwata, naye ne batya ekibiina ky'abantu, kubanga kyali kimanyi nti Yesu mulanzi. Awo Yesu n'addamu okwogera n'abantu ng'akozesa engero, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa ne kabaka, eyateekerateekera omwana we embaga ey'obugole. N'atuma abaddu be okutegeeza abaayitibwa ku mbaga, nti: ‘Mujje.’ Naye bo ne bagaana okujja. “N'atuma nate abaddu abalala ng'agamba nti: ‘Mugambe abaayitibwa nti: Embaga yange ewedde okuteekateeka. Ente zange n'ebyassava ebirala bittiddwa. Era buli kintu kiwedde okutegeka. Mujje ku mbaga ey'obugole.’ “Naye abaayitibwa ne batafaayo. Omu n'alaga mu kyalo kye, omulala mu by'amaguzi bye. Ate abalala ne bakwata abaddu be ne babayisa bubi, era ne babatta. Kabaka n'asunguwala, n'asindika eggye lye, n'azikiriza abassi abo, era n'ayokya ekibuga kyabwe. Awo n'agamba abaddu be nti: ‘Embaga ey'obugole ewedde okuteekateeka. Naye abo abaayitibwa tebasaanira. Kale mulage mu masaŋŋanzira, bonna be munaalaba mubayite ku mbaga ey'obugole.’ Abaddu ne balaga mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baasanga, ababi n'abalungi. Ekisenge eky'embaga ey'obugole ne kijjula abagenyi. “Awo kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya mbaga ya bugole. Kabaka n'amugamba nti: ‘Munnange, oyingidde otya muno nga toyambadde kyambalo kya mbaga ya bugole?’ Ye n'asirika. Awo kabaka n'agamba abaweereza nti: ‘Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’ ” Awo Yesu n'amaliriza ng'agamba nti: “Bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.” Awo Abafarisaayo ne bagenda, ne bateesa nga bwe banaatega Yesu mu bigambo. Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'abawagizi ba Herode, ne bagamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu. Kale nno ssebo, tubuulire, olowooza otya? Kikkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tekikkirizibwa?” Kyokka Yesu n'ategeera enkwe zaabwe, n'agamba nti: “Bakuusa mmwe, lwaki munkema? Mundage essente ey'omusolo.” Ne bamuleetera essente. N'ababuuza nti: “Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne bamuddamu nti: “Bya Kayisaari.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Kale nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.” Bwe baawulira ebyo, ne beewuunya nnyo, ne bamuleka, ne bagenda. Ku lunaku olwo, Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu. Ne bagamba nti: “Muyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Singa omuntu afa, n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’ “Kale ewaffe waaliyo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa. N'afa nga tazadde mwana. Mukazi we n'amulekera muganda we. Ekintu kye kimu ekyatuuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w'omusanvu. Oluvannyuma, bonna nga bamaze okufa, omukazi naye n'afa. Kale ku lunaku olw'amazuukira, omukazi oyo aliba muk'ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.” Awo Yesu n'abaddamu nti: “Muwubwa olw'obutamanya ebyawandiikibwa, wadde obuyinza bwa Katonda. Kubanga abantu bwe balizuukira, baliba nga bamalayika mu ggulu: nga tebakyawasa, era nga tebakyafumbirwa. “Ate ebifa ku kuzuukira kw'abafu, temusomangako ekyo Katonda kye yabagamba? Yagamba nti: ‘Nze Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.’ Katonda si wa bafu, wabula wa balamu.” Abantu bwe baawulira ebyo, ne beewuunya okuyigiriza kwe. Awo Abafarisaayo bwe baawulira nti Yesu asirisizza Abasaddukaayo, ne bakuŋŋaana. Omu ku bo, omunnyonnyozi w'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti: “Muyigiriza, kiragiro ki ekisinga byonna obukulu?” Yesu n'amuddamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna. Ekyo kye kiragiro ekikulembera byonna, era ekisinga obukulu. Ekiragiro ekiddirira ekyo mu bukulu, era ekikifaanana, kye kino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.’ Ku biragiro bino byombi, Amateeka gonna n'ebyawandiikibwa abalanzi kwe byesigamye.” Awo Abafarisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza nti: “Mulowooza mutya ku Kristo? Muzzukulu w'ani?” Ne bamuddamu nti: “Muzzukulu wa Dawudi.” Yesu n'ababuuza nti: “Kale lwaki Dawudi yennyini, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, amuyita Mukama we? Agamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’ “Kale oba nga Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?” Ne watabaawo ayinza kumuddamu kigambo. Era okuva olwo tewaaliwo muntu yaguma kwongera kumubuuza kibuuzo. Awo Yesu n'ayogera n'ekibiina ky'abantu awamu n'abayigirizwa be, n'agamba nti: “Abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo be bali mu kifo kya Musa. Kale byonna bye babagamba mubikwate, era mubikole. Naye temugoberera bikolwa byabwe, kubanga bye bategeeza abantu, bo si bye bakola. Basiba emigugu emizito, era egiteetikkika, ne balagira abantu okugyetikka ku bibegabega, sso nga bo bennyini tebaagala wadde okuginyeenyaako n'engalo zaabwe. Byonna bye bakola, bagenderera kulabibwa bantu. Kyebava bagaziya obusawo obw'amaliba, omuba ebigambo by'omu byawandiikibwa, bwe beesiba mu kyenyi ne ku mikono. Era bagaziya amatanvuwa g'ebyambalo byabwe. Baagala ebifo ebyekitiibwa ku mbaga, n'ebifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro. Era baagala okulamusibwa mu butale, n'okuyitibwa nti: ‘Muyigiriza.’ Naye mmwe temuyitibwanga nti: ‘Muyigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu. Mmwe mwenna muli baaluganda. Ku nsi temubangako gwe muyita ‘Kitammwe,’ kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. Era temuyitibwanga bagunjuzi, kubanga omugunjuzi wammwe ali omu, ye Kristo. Asinga ekitiibwa mu mmwe, anaabanga muweereza wammwe. Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa. Era buli eyeetoowaza, aligulumizibwa. “Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo! Muli ba kubonaabona! Muggalirawo abantu ababa bayingira Obwakabaka obw'omu ggulu, mmwe mwennyini ne mutayingira, era ne muziyiza n'abo abagezaako okuyingira. [ Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona, kubanga munyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, ne musinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. N'olwekyo muliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.] “Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga mutambula ennyanja n'olukalu okukyusa omuntu omu, abe omugoberezi wammwe. Kyokka bwe mumala okumukyusa, ne mumufuula asaanira omuliro ogutazikira, n'okusinga mmwe bwe mugusaanira. “Muli ba kubonaabona mmwe, abakulembeze bamuzibe! Mugamba nti: ‘Buli alayira Essinzizo, taba na musango bw'atatuukiriza ky'alayidde. Naye buli alayira zaabu ow'omu Ssinzizo, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’ Mmwe abasirusiru, era bamuzibe, ekisinga obukulu kiruwa: zaabu, oba Essinzizo erifuula zaabu oyo okuba ekintu ekitukuvu? Era mugamba nti: ‘Buli alayira alutaari, taba na musango bw'atatuukiriza ky'alayidde. Naye buli alayira ekirabo ekiri ku alutaari, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde’. “Mmwe bamuzibe, ekisinga obukulu kiruwa: ekirabo, oba alutaari efuula ekirabo ekyo okuba ekintu ekitukuvu? Kale nno oyo alayira alutaari, aba alayidde ne byonna ebigiriko. Era oyo alayira Essinzizo, aba alayidde ne Katonda alibeeramu. Oyo alayira eggulu, aba alayidde ntebe ya Katonda, ne Katonda agituulako. “Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muwa ekimu eky'ekkumi ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi enva, ne mulekayo okutuukiriza obwenkanya, ekisa, n'okukkiriza, ng'ate bye bisinga obukulu mu mateeka ga Katonda. Bino biteekwa okukolebwa, na biri nga tebiragajjalirwa. Mmwe abakulembeze bamuzibe, muggya akabu mu mazzi ge munywa, naye ne mumiriramu eŋŋamiya! “Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga ebikopo n'ebibya mubinyiriza kungulu, sso nga munda bijjudde ebyo bye mwafuna mu bunyazi ne mu kwefaako mwekka. Mufarisaayo ggwe, muzibe, sooka oyoze mu kikopo ne mu kibya, olyoke obinyirize ne kungulu. “Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muli ng'amalaalo agaasiigibwako langi enjeru gatukula, agalabika nga mayonjo kungulu, naye nga munda gajjudde amagumba g'abafu, n'okuwunya obubi kwonna. Bwe mutyo nammwe, kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, sso nga munda mujjudde obukuusa n'obumenyi bw'amateeka. “Bakuusa mmwe, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Kubanga muzimba amalaalo g'abalanzi, era munyiriza ebiggya by'abatuukirivu, ne mugamba nti: ‘Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandyetabye wamu nabo okutta abalanzi.’ Bwe mutyo ne mukakasa nti muli bazzukulu b'abo abatta abalanzi. Kale mumalirize ekyo bajjajjammwe kye baatandika. Mmwe emisota, abaana b'emisota egy'obusagwa! Muliwona mutya okusalirwa omusango okusuulibwa mu muliro ogutazikira? Kyenva mbatumira abalanzi n'abantu abagezi era n'abayigiriza: abamu ku bo mulibatta, abalala mulibakomerera ku misaalaba, n'abalala mulibakubira mu makuŋŋaaniro gammwe. Mulibagobaganya okubaggya mu kibuga ekimu okubazza mu kirala, mulyoke mubuuzibwe omusaayi gw'abatuukirivu bonna ogwayiibwa ku nsi, okuva ku musaayi gwa Abeeli omutuukirivu, okutuuka ku gwa Zakariya, omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati w'ekifo ekitukuvu ne alutaari, mu Ssinzizo. Mazima mbagamba nti: ekibonerezo olw'abo bonna kiriweebwa abantu ab'omulembe guno. “Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi, era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abantu bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza? Kale ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa. Kubanga mbagamba nti: temulindaba okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ” Awo Yesu n'ava mu Ssinzizo. Bwe yali ng'agenda, abayigirizwa be ne bajja w'ali, okumulaga enzimba y'Essinzizo. Ye n'abaddamu nti: “Bino byonna mubiraba? Mazima mbagamba nti: mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.” Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'emiti Emizayiti, abayigirizwa ne bajja w'ali mu kyama, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga okujja kwo, n'enkomerero y'ensi?” Yesu n'abaddamu nti: “Mwerinde, waleme kubaawo ababuzaabuza. Kubanga bangi balijja nga beeyita nze, Kristo, era balibuzaabuza bangi. Muliwulira entalo wano ne wali. Mwerinde muleme kweraliikirira. Ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo enjala n'okukankana kw'ensi mu bitundu bingi. Naye olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi. “Mmwe balibakwata, ne babawaayo mubonyaabonyezebwe, era mulittibwa. Abantu bonna balibakyawa mmwe olw'okuba muli bagoberezi bange. Olwo bangi baliterebuka, baliryaŋŋanamu olukwe, era balikyawagana. N'abalanzi ab'obulimba balirabika, ne babuzaabuza bangi. Olw'obujeemu okuyinga obungi, okwagala kw'abangi kuliwola. Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa. Era Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka galitegeezebwa abantu mu nsi zonna, okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n'eryoka etuuka. “Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekyenyinyalwa, Daniyeli omulanzi kye yayogerako, nga kiri mu kifo ekitukuvu, (oyo asoma bino ategeere), olwo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi. Aliba waggulu ku nnyumba ye, bw'akkanga, tayingiranga mu nnyumba kuggyamu ky'anaatwala. Aliba mu nnimiro, taddanga ka kunona kkooti ye. Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo, nga balibonaabona nnyo! Mwegayirire Katonda, ekiseera kye muteekwa okuddukiramu kireme kubaawo mu biseera eby'obutiti oba ku Sabbaato. Kubanga mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ensi, okutuusa kati. Era tewagenda kuddawo kubonaabona kulala kwenkana awo. Era singa ennaku ezo ez'okubonaabona tezaakendeezebwako, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu, ennaku ezo zirikendeezebwako. “Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano’, oba nti: ‘Ali wali’, temukkirizanga. Kubanga abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka. Mwerinde, mbabuulidde nga bukyali. “Kale bwe babagambanga nti: ‘Kristo ali mu ddungu’, temugendangayo; oba nti: ‘Ali mu nnyumba’, temukkirizanga. Kubanga ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ebuvanjuba ne kulabikira n'ebugwanjuba, n'okujja kw'Omwana w'Omuntu bwe kutyo bwe kuliba. “Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira. “Mu nnaku ezo, ekiseera eky'okubonaabona nga kyakaggwa, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa. Olwo akabonero k'Omwana w'Omuntu kalirabika ku ggulu, ebika byonna eby'oku nsi ne bikuba ebiwoobe. Era ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire eby'oku ggulu, ng'alina obuyinza bungi, n'ekitiibwa kinene. Eŋŋombe ey'eddoboozi ery'omwanguka erivuga, Omwana w'Omuntu n'atuma bamalayika be mu njuyi zonna ennya ez'ensi. Era balikuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi. “Mulabire ku muti omutiini muyige: amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka. Mu ngeri y'emu bwe mulabanga ebyo byonna, mumanyanga nti enkomerero eri kumpi nnyo. Mazima mbagamba nti: ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo. Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo. “Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde nze Omwana, wabula Kitange yekka ye amanyi. “Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu. Mu nnaku ezaakulembera omujjuzo, abantu baali balya era nga banywa. Baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato. Ne batamanya, okutuusa omujjuzo lwe gwajja, ne gubasaanyaawo bonna. Bwe kityo bwe kiriba, Omwana w'Omuntu lw'alijja. “Mu nnaku ezo, abantu abaliba ababiri mu nnimiro, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. “Kale mwerinde, kubanga temumanyi lunaku, Mukama wammwe lw'alijjirako. Mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya ekiseera omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa. Kale nno nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu. “Kale ani omuwanika omwesigwa era omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo? Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja, gw'alisanga ng'akola bw'atyo. Mazima mbagamba nti: alimuteekawo okulabirira ebintu bye byonna. “Naye singa omuddu oyo aba omubi, n'agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okudda’, n'atandika okukuba baddu banne, era n'atandika okulya n'okunywa awamu n'abatamiivu, mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamusuubirirako, ne mu ssaawa gy'atamanyi. Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abakuusa, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji. “Mu nnaku ezo, Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaanaanyirizibwa n'abawala ekkumi, abaakwata ettaala zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole. Abataano ku bo baali basiru, naye abalala abataano nga bagezi. Abasiru baatwala ettaala zaabwe, naye ne batatwala mafuta mu ccupa. Abagezi ne batwala amafuta mu ccupa, awamu n'ettaala zaabwe. Awasa omugole bwe yalwawo okujja, bonna ne bakwatibwa otulo, ne beebaka. “Ekiro mu ttumbi, ne wabaawo oluyoogaano nti: ‘Awasa omugole wuuno ajja, mujje mumwanirize.’ Abawala ekkumi ne bagolokoka, ne bategeka ettaala zaabwe. Olwo abasiru ne bagamba bannaabwe abagezi nti: ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe ziggweerera’. Abawala abagezi ne baddamu nti: ‘Gayinza obutatumala ffe nammwe. Ekisinga obulungi, mugende gye bagatunda, mwegulireyo.’ “Abawala abasiru nga bagenze okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka. Abaali beetegese ne bayingira wamu naye mu mbaga ey'obugole, oluggi ne luggalwawo. “Oluvannyuma, abawala bali abasiru ne batuuka, ne bagamba nti: ‘Ssebo, ssebo, tuggulirewo.’ Ye n'addamu nti: ‘Mazima sibamanyi.’ “Kale mwerinde, kubanga olunaku n'essaawa temubimanyi. “Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananako ng'omuntu eyali agenda mu nsi ey'ewala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye okubirabirira. Omu n'amulekera talanta ttaano, omulala bbiri, ate omulala talanta emu, ng'alabira ku kusobola kwa buli omu, n'agenda. Amangwago, oyo eyafuna talanta ettaano, n'agenda n'azisuubuza, n'afunamu amagoba ga talanta endala ttaano. N'oyo eyafuna talanta ebbiri, n'akola bw'atyo, n'afunamu amagoba ga talanta endala bbiri. Kyokka oyo eyafuna talanta emu, n'agenda, n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu ensimbi za mukama we. “Nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, mukama w'abaddu abo n'akomawo, n'ababuuza bannyonnyole ebifa ku nsimbi ze. Omuddu eyafuna talanta ettaano, n'ajja, n'aleeta talanta endala ttano, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta ettaano. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala ttaano.’ Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ N'oyo eyafuna talanta ebbiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta bbiri. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala bbiri.’ Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ Era n'oyo eyafuna talanta emu n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, namanya nti oli muntu mukakanyavu, ng'okungulira gy'otaasimbira, ng'okuŋŋaanyiza gy'otaasigira, ne ntya, kyennava ŋŋenda, ensimbi zo ne nzikweka mu ttaka. Laba, ziizino.’ Mukama we n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi era omugayaavu! Wamanya nti nkungulira gye saasimbira, nkuŋŋaanyiza gye saasigira. N'olwekyo ensimbi zange wandiziterese mu bbanka: nze nga nkomyewo, ne nzifuna n'amagoba gaazo. Kale ensimbi muzimuggyeeko, muziwe oyo alina talanta ekkumi. Kubanga buli alina aliweebwa n'aba na bingi nnyo. Ate atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako. Omuddu oyo atalina ky'agasa, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’ “Omwana w'Omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, eky'obwakabaka, bamalayika bonna nga bali wamu naye, olwo alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa. Abantu bonna balikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge, n'abaawulamu, ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi. Endiga aliziteeka ku ludda lwe olwa ddyo, ate embuzi ku lwa kkono. “Awo Kabaka aligamba abo abali ku ludda lwe olwa ddyo nti: ‘Mmwe Kitange be yawa omukisa, mujje mubeere mu Bwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ensi lwe yatondebwa. Kubanga nali nnumwa enjala, ne mumpa ekyokulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mumpa ekyokunywa. Nali mugenyi, ne munsuza. Nali sirina kya kwambala, ne munnyambaza. Nali mulwadde ne munnambula. Nali musibe mu kkomera, ne mujja okundaba.’ “Awo abaakola ebituufu balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, ne tukuwa ekyokulya, ng'olumwa ennyonta, ne tukuwa ekyokunywa? Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi, ne tukusuza, oba nga tolina kya kwambala, ne tukwambaza? Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tukulambula?’ “Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwakikolera omu ku baganda bange bano abato, mwakikolera nze.’ “Awo aligamba abo abali ku ludda lwe olwa kkono nti: ‘Muve we ndi, mmwe abakolimire! Mugende mu muliro ogutazikira, ogwategekerwa Sitaani ne bamalayika be. Kubanga nali nnumwa enjala, ne mutampa kyakulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mutampa kyakunywa. Nali mugenyi, ne mutansuza. Nali sirina kya kwambala, ne mutannyambaza. Nali mulwadde, era nali mu kkomera, ne mutannambula.’ “Awo nabo balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, oba ng'olumwa ennyonta, oba ng'oli mugenyi, oba nga tolina ky'oyambala, oba ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’ Awo Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwagaana okuyamba omu ku bano abasinga obuto, mwagaana kuyamba nze.’ “Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo. Naye abaakola ebituufu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.” Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mumanyi nti wabulayo ennaku bbiri, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke. Era Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo, akomererwe ku musaalaba.” Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bakuŋŋaanira mu luggya lwa Ssaabakabona, ayitibwa Kayaafa. Ne bakola olukwe okukwata Yesu, bamutte. Naye ne bagamba nti: “Tuleme kumukwata mu biseera bya nnaku nkulu, sikulwa ng'abantu beegugunga.” Awo Yesu bwe yali e Betaniya, mu nnyumba ya Simooni omugenge, omukazi n'ajja, ng'alina eccupa erimu omuzigo omulungi, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agufuka ku mutwe gwa Yesu, ng'atudde alya. Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne basunguwala, ne bagamba nti: “Lwaki omuzigo ogwo gwonooneddwa? Gubadde guyinza okutundibwa ensimbi nnyingi, ne zigabirwa abaavu.” Yesu bwe yategeera kye bagamba, n'abaddamu nti: “Lwaki omukazi mumutawaanya? Ekikolwa ky'ankoledde kirungi. Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. Bw'afuse omuzigo guno ogw'akawoowo ku mubiri gwange, anteekeddeteekedde okuziikibwa. Mazima mbagamba nti: wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.” Awo omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Yuda Yisikaryoti, n'agenda eri bakabona abakulu, n'agamba nti: “Munampa ki, nze mmubawe?” Bo ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. Okuva olwo Yuda n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu. Ku lunaku olusooka, olw'Embaga eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti: “Oyagala tukutegekere wa gy'onooliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?” Yesu n'abagamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kinaatera okutuuka. Ewuwo gye nnaaliira awamu n'abayigirizwa bange, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.’ ” Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bwe yabalagira, ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne batuula okulya. Bwe baali balya, Yesu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti: omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, era kinnoomu, ne babuuza Yesu nti: “Mukama wange, omuntu oyo ye nze?” Yesu n'addamu nti: “Oyo akoza nange mu kibya, ye anandyamu olukwe. Ddala Omwana w'Omuntu agenda kuttibwa, ng'ebyawandiikibwa bwe bimwogerako. Naye omuntu oyo anaalyamu Omwana w'Omuntu olukwe, nga zimusanze! Omuntu oyo kyandimubeeredde kirungi obutazaalibwa!” Yuda, eyalyamu Yesu olukwe, n'agamba nti: “Muyigiriza, omuntu oyo ye nze?” Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde.” Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'aguwa abayigirizwa be, n'agamba nti: “Mutoole mulye, kino mubiri gwange.” Ate n'akwata ekikopo, ne yeebaza Katonda, n'agamba nti: “Munywe kuno mwenna, kubanga kino musaayi gwange, ogukakasa endagaano empya ekoleddwa Katonda, era oguyiibwa ku lw'abangi okusonyiyisa ebibi. Naye mbagamba nti okuva kati sirinywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa lwe ndigunywa wamu nammwe nga muggya, mu Bwakabaka bwa Kitange.” Awo bwe baamala okuyimba oluyimba olw'okutendereza Katonda, ne bafuluma, ne balaga ku Lusozi olw'emiti Emizayiti. Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira ekiro kino, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ez'omu kisibo ne zisaasaana.’ Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibakulemberamu okugenda e Galilaaya.” Awo Peetero n'amuddamu nti: “Abalala bonna ne bwe banadduka ne bakwabulira, nze siikwabulire n'akatono.” Yesu n'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti: mu kiro kino kyennyini, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” Peetero n'amuddamu nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abalala ne boogera bwe batyo. Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'abagamba nti: “Mutuule wano, nze ŋŋende eri neegayirire Katonda.” Awo n'atwalako Peetero ne batabani ba Zebedaayo bombi. N'atandika okutya n'okweraliikirira ennyo. N'agamba nti: “Omwoyo gwange gujjudde obuyinike obuyinza n'okunzita! Mubeere wano, mutunule wamu nange.” Bwe yeeyongerayo katono mu maaso, n'afukamira, ne yeegayirira Katonda nti: “Kitange, singa kiyinzika, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona! Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.” Awo n'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti: “Temusobodde kutunula nange wadde essaawa emu bw'eti? Mutunule era mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa. Kubanga omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu.” Era n'agenda omulundi ogwokubiri, ne yeegayirira Katonda ng'agamba nti: “Kitange, oba nga ekikopo kino eky'okubonaabona tekiyinza kunzigyibwako, wabula nga nkinywedde, kale ky'oyagala kikolebwe.” Awo n'ajja nate, n'asanga abayigirizwa nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gajjudde otulo. Yesu n'abaleka nate, n'agenda, ne yeegayirira Katonda omulundi ogwokusatu, mu ngeri y'emu nga bwe yeegayirira mu kusooka. Awo n'addayo eri abayigirizwa, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Essaawa etuuse Omwana w'Omuntu okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi. Musituke tugende. Omuntu andiddemu olukwe ali kumpi okutuuka.” Awo Yesu yali akyayogera, Yuda, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina ky'abantu abaalina ebitala n'emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga. Oyo eyalyamu Yesu olukwe yali amaze okuwa ekibiina ky'abantu akabonero ng'agamba nti: “Omuntu gwe nnaalamusa nga mmunywegera, ye wuuyo, mumukwate.” Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Mirembe, Muyigiriza!” Era n'amunywegera. Yesu n'amugamba nti: “Munnange, kola ky'ojjiridde.” Awo ne bajja, ne bavumbagira Yesu, ne bamukwata, ne bamunyweza. Omu ku abo abaali ne Yesu n'aggyayo ekitala, n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu. Yesu n'amugamba nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga abo bonna abakwata ekitala, balifa kitala. Olowooza nti siyinza kusaba Kitange n'ampeereza ebibinja by'eggye lya bamalayika ebisoba mu kkumi n'ebibiri? Kale olwo ebyawandiikibwa ebigamba nti kiteekwa okuba bwe kiti, binaatuukirira bitya?” Mu kaseera ako Yesu n'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Buli lunaku natuulanga mu Ssinzizo ne njigiriza, ne mutankwata. Naye bino byonna bikoleddwa, ebyo ebyawandiikibwa abalanzi biryoke bituukirire.” Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka. Awo abo abaakwata Yesu ne bamutwala ewa Kayaafa, Ssaabakabona, abannyonnyozi b'amateeka n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, gye baali bakuŋŋaanidde. Peetero yagoberera Yesu okutuukira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, kyokka ng'amwesuddeko ebbanga. N'ayingira mu luggya, n'atuula n'abakuumi, alabe ebinaafaayo. Bakabona abakulu n'ab'olukiiko abalala bonna, ne banoonya obujulizi obw'obulimba bwe banaasinziirako okutta Yesu. Kyokka ne batabuzuula, newaakubadde abajulirwa ab'obulimba bangi bajja ne bamuwaayiriza. Oluvannyuma ne wajjawo babiri, ne bagamba nti: “Ono yagamba nti: ‘Nnyinza okumenyawo Essinzizo ate ne ndizimba mu nnaku ssatu.’ ” Awo Ssaabakabona n'ayimirira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina ky'oddamu mu ebyo bye bakulumiriza?” Kyokka Yesu n'asirika. Ssaabakabona n'amugamba nti: “Nkulayiza Katonda Nnannyibulamu, tutegeeze oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.” Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Naye mbagamba nti okuva kati muli ba kulaba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.” Awo Ssaabakabona n'ayuza ebyambalo bye, era n'agamba nti: “Avvodde Katonda! Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Kaakati muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde. Mmwe mulowooza mutya?” Ne baddamu nti: “Asaanidde okuttibwa.” Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso, era ne bamukuba empi, nga bwe bagamba nti: “Kristo, tubuulire, ani akukubye?” Awo Peetero bwe yali ng'atudde ebweru mu luggya, omuwala omu omuweereza n'ajja w'ali, n'agamba nti: “Naawe wali ne Yesu Omugalilaaya.” Kyokka Peetero ne yeegaana mu maaso ga bonna, ng'agamba nti: “Ky'ogamba sikimanyi.” Ate bwe yali ng'ayita mu lukuubo olufuluma ebweru, omuwala omulala omuweereza n'amulaba, n'agamba abantu abaali awo nti: “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaareeti.” Peetero n'addamu okwegaana ng'agamba nti: “Ndayira, omuntu oyo simumanyi.” Nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bajja, ne bagamba Peetero nti: “Ddala naawe oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga n'enjogera yo ekuloopa.” Awo Peetero n'agamba nti: “Oba bye njogera si bya mazima, kale nkolimirwe.” Era n'alayira nti: “Katonda alaba nti nze simanyi musajja oyo.” Amangwago enkoko n'ekookolima. Peetero n'ajjukira ebyo Yesu bye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'afuluma wabweru, n'akaaba nnyo amaziga. Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa ku kutta Yesu. Ne bamusiba, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato omufuzi Omurooma. Awo Yuda eyalyamu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu asaliddwa ogw'okufa, ne yejjusa. Era ebitundu bya ffeeza n'abiddiza bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, nga bw'agamba nti: “Nayonoona okuwaayo omuntu okuttibwa sso nga talina musango!” Naye bo ne bamuddamu nti: “Ekyo tukifaako ki? Ezo nsonga zo.” Yuda n'asuula ebitundu bya ffeeza mu Ssinzizo, n'afuluma, n'agenda yeetuga. Bakabona abakulu bwe baggyayo ebitundu bya ffeeza ebyo, ne bagamba nti: “Tekikkirizibwa okuteeka ensimbi zino mu kifo omuteekebwa ebirabo, kubanga ziguze omusaayi gw'omuntu.” Bwe baamala okukkaanya, ne bazigulamu ennimiro y'omubumbi, okuziikangamu abagenyi. Ennimiro eyo kyeyava eyitibwa Ennimiro y'Omusaayi n'okutuusa kati. Olwo ekyayogerwa omulanzi Yeremiya ne kituukirira nti: “Ne batwala ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, omuwendo abamu ku bantu ba Yisirayeli gwe baalamula mu oyo, ne bagulamu ennimiro y'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.” Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'omufuzi Omurooma. Omufuzi oyo n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.” Ate bakabona abakulu bwe baamuwawaabira, n'ataddamu n'akatono. Awo Pilaato n'amugamba nti: “Towulira ebyo byonna bye bakulumiriza?” Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo na kimu. Omufuzi ne yewuunya nnyo. Ku buli Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, omufuzi Omurooma yali amanyidde okuta omusibe, ekibiina ky'abantu gwe kyamusabanga. Ku mulundi guno, waaliwo omusibe amanyiddwa ennyo, ayitibwa Barabba. Awo abantu bwe baakuŋŋaana, Pilaato n'ababuuza nti: “Mwagala mbateere aluwa: Barabba, oba Yesu ayitibwa Kristo?” Kubanga yamanya nti baali bawaddeyo Yesu lwa buggya. Awo Pilaato bwe yali atudde ku ntebe ey'obulamuzi, mukazi we n'amutumira ng'agamba nti: “Omuntu oyo atalina musango tomukolako kabi n'akatono, muleke, kubanga olwaleero, nalumiddwa nnyo mu kirooto ku lulwe.” Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bafukuutirira ekibiina ky'abantu okusaba Barabba ateebwe, Yesu azikirizibwe. Naye omufuzi n'ababuuza nti: “Ku bano bombi mwagala mbateere aluwa?” Ne baddamu nti: “Barabba.” Pilaato n'ababuuza nti: “Kale Yesu ayitibwa Kristo nnaamukola ntya?” Bonna ne baddamu nti: “Akomererwe ku musaalaba!” Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Akomererwe ku musaalaba!” Pilaato bwe yalaba nga byonna bya bwereere, era nga beeyongera bweyongezi okusasamala, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo, mu maaso g'abantu bonna nga bw'agamba nti: “Nze sirina kye nvunaanibwa ku kuttibwa kwa muntu ono. Byonna biri ku mmwe.” Abantu bonna ne baddamu nti: “Ekibonerezo olw'okuttibwa kwe kibe ku ffe, ne ku baana baffe.” Awo Pilaato n'abateera Barabba. Ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba. Awo abaserikale ba Pilaato ne batwala Yesu mu lubiri lwa Pilaato, oluyitibwa Purayitoriyo. Ekibiina kyonna ne kimukuŋŋaanirako. Ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza olugoye olumyufu. Ne bawetaaweta amaggwa, ne bakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe. Ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo, ne bafukamira mu maaso ge, ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamufujjira amalusu, ne bakwata olumuli, ne bamukuba mu mutwe. Bwe baamala okumukudaalira, ne bamwambulamu olugoye luli, ne bamwambaza engoye ezize, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba. Bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukireene, ayitibwa Simooni, ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu. Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Golugoota, ekitegeeza Ekifo ky'Ekiwanga, ne bawa Yesu omwenge gw'emizabbibu, nga gutabuddwamu ekintu ekikaawa. Kyokka bwe yakombako, n'atayagala kunywa. Bwe baamala okumukomerera ku musaalaba, ne bagabana engoye ze, nga bazikubira akalulu. Ne batuula awo ne bamukuuma. Waggulu w'omutwe gwe ne bateekawo omusango ogumuvunaanibwa, nga guwandiikiddwa nti: “ONO YE YESU, KABAKA W'ABAYUDAAYA.” Era ne bakomerera abanyazi babiri ku misaalaba okumpi ne Yesu: omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono. Abantu abaali bayitawo ne bavuma Yesu, ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu, weewonye. Oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musaalaba okke!” Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga, nabo ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Yawonyanga balala, tayinza kwewonya ye yennyini. Ye Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulyoke tumukkirize. Yeesiga Katonda, era yagamba nti Mwana wa Katonda. Kale Katonda amuwonye kaakano oba ng'amwagala.” Abanyazi abaakomererwa ku misaalaba okumpi naye, nabo ne bamuvuma mu ngeri ye emu. Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna. Awo nga ku ssaawa ey'omwenda, Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eli, Eli, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” Abamu abaali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ayita Eliya!” Amangwago omu ku bo n'adduka, n'akwata ekyangwe, n'akinnyinka mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa. Naye abalala ne bagamba nti: “Leka, tulabe oba nga Eliya anajja okumuwonya!” Awo Yesu n'akoowoola nate n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa. Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Ensi n'ekankana, enjazi ne zaatika. Entaana ne zibikkuka, abatuukirivu bangi abaali bafudde ne bazuukira, ne bava mu ntaana. Era Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu Kibuga Ekitukuvu, abantu bangi ne babalaba. Omurooma omukulu w'ekibinja ky'abaserikale era n'abaserikale abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ensi bw'ekankana, era ne byonna ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Ddala ono abadde Mwana wa Katonda!” Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Galilaaya, nga bamuweereza, abaali ewalako nga balengera. Mu abo mwalimu Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yakobo ne Yose, era ne nnyina w'abatabani ba Zebedaayo. Obudde bwe bwawungeera, omusajja omugagga ow'e Arimataya, ayitibwa Yosefu, n'ajja. Era naye yali muyigirizwa wa Yesu. N'agenda eri Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu. Awo Pilaato n'alagira okugumuwa. Yosefu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu lugoye olweru olulungi. N'aguteeka mu ntaana eyiye empya ey'empuku, gye yali asimye mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja eddene, n'aliggaza omulyango gw'entaana, n'agenda. Mariya Magudaleena ne Mariya omulala baali batudde awo mu maaso g'entaana. Ku lunaku olwaddirira, kwe kugamba oluddirira olw'Okweteekateeka, bakabona abakulu n'Abafarisaayo, ne bakuŋŋaana, Ne bagenda eri Pilaato, ne bagamba nti: “Ssebo, tujjukidde: omulimba oyo bwe yali ng'akyali mulamu, yagamba nti: ‘Ennaku bwe ziriyitawo essatu, ndizuukira.’ 9:22; 18:31-33 Kale nno lagira bakuumire ddala entaana, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kugenda kumubbamu, bagambe abantu nti: ‘Azuukidde!’ Olwo obulimba obwo obw'oluvannyuma ne buba bubi okusinga obwo obwasooka.” Pilaato n'abagamba nti: “Mulina abakuumi. Mugende mukuumire ddala entaana nga bwe muyinza.” Awo ne bagenda, ne banywereza ddala entaana, ejjinja ne balissaako akabonero, ne balekawo abakuumi. Sabbaato bwe yali ng'eggwaako, olunaku olusooka mu wiiki nga lunaatera okukya, Mariya Magudaleena ne Mariya omulala ne bagenda okulaba entaana. Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu n'ajja, n'ayiringisa ejjinja, n'aliggyawo, era n'alituulako. Yali afaanana ng'okumyansa, n'ekyambalo kye nga kitukula ng'omuzira. Abakuumi, olw'okumutya ennyo, ne bakankana, era ne baba ng'abafudde. Awo malayika n'agamba abakazi nti: “Mmwe temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa ku musaalaba. Wano taliiwo. Azuukidde nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo w'abadde agalamidde. Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti: ‘Azuukidde, era abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira.’ Kaakano mbabuulidde.” Awo ne bafuluma, ne bava mangu ku ntaana nga batidde, naye nga bajjudde essanyu, ne badduka okubuulira abayigirizwa be. Awo Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti: “Mirembe!” Ne bamusemberera, ne bakwata ku bigere bye, ne bamusinza. Yesu n'abagamba nti: “Muleke kutya. Mugende mubuulire baganda bange bagende e Galilaaya. Eyo gye balindabira.” Abakazi bwe baali bagenda, abamu ku baserikale abaakuuma entaana, ne bajja mu kibuga, ne bategeeza bakabona abakulu byonna ebibaddewo. Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa. Ne bawa abaserikale ensimbi nnyingi, ne bagamba nti: “Mugambe nti: ‘Abayigirizwa be bazze ekiro nga twebase, ne babba omulambo gwe.’ Ekyo omufuzi bw'alikiwulira, ffe tulimuwooyawooya, ne tubawonya omusango.” Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba. Ekigambo ekyo ne kibuna mu Buyudaaya n'okutuusa kati. Awo abayigirizwa ekkumi n'omu ne balaga e Galilaaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira okugenda. Bwe baamulaba, ne bamusinza. Naye abamu ku bo ne babuusabuusa. Yesu n'abasemberera, n'ayogera nabo, n'agamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende, abantu b'amawanga gonna mubafuule abayigirizwa bange, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, ne lya Mwana, ne lya Mwoyo Mutuukirivu, nga mubayigiriza okukwata byonna bye nabalagira mmwe. Nange ndi wamu nammwe okutuusa ensi lw'eriggwaawo.” Gano ge Mawulire Amalungi aga Yesu Kristo Omwana wa Katonda. Gaatandika ng'omulanzi Yisaaya bwe yawandiika nti: “Laba, ntuma omubaka wange akukulembere okukwerulira ekkubo. Waliwo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge.’ ” Bw'atyo ne Yowanne Omubatiza yajja mu ddungu, n'abatiza abantu, nga bw'abategeeza nti: “Mwenenye, mubatizibwe, Katonda abasonyiwe ebibi byammwe.” Abantu baavanga mu byalo by'omu Buyudaaya bwonna, ne mu kibuga Yerusaalemu, ne bagenda eri Yowanne, ne baatula ebibi byabwe. Olwo Yowanne n'ababatiza mu Mugga Yorudaani. Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale. Abantu yabategeezanga nti: “Waliwo ansinga obuyinza ajja okujja. Sisaanira na kukutama kusumulula buguwa bwa ngatto ze. Nze mbatiza na mazzi kyokka ye, alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu.” Mu nnaku ezo, Yesu n'ava e Nazaareeti eky'omu Galilaaya, n'agenda okubatizibwa Yowanne mu Mugga Yorudaani. Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, amangwago n'alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo Mutuukirivu ng'afaanana ng'ejjiba, ng'akka ku ye. Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.” Mak 9:7; Luk 3:22 Amangwago Yesu n'asindikibwa Mwoyo Mutuukirivu mu ddungu, n'amalayo ennaku amakumi ana, ng'akemebwa Sitaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza. Awo Yowanne bwe yamala okuggalirwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Galilaaya, n'ategeeza abantu Amawulire Amalungi agava eri Katonda, n'agamba nti: “Ekiseera ekyali kirindirirwa kituuse. Obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye, era mukkirize Amawulire Amalungi.” Awo Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'ennyanja ey'e Galilaaya, n'alaba abavubi Simooni ne Andereya abooluganda, nga batega obutimba mu nnyanja. Awo n'abayita nti: “Mujje muyitenga nange, ndibafuula abavubi b'abantu.” Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bagenda naye. Ate bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo. Baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe. Amangwago nabo n'abayita. Ne baleka awo kitaabwe Zebedaayo n'abapakasi be mu lyato, bo ne bagenda ne Yesu. Awo Yesu n'abayigirizwa be, ne batuuka mu kibuga Kafarunawumu. Amangwago, ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayigiriza. Abantu abaamuwulira, ne beewuunya nnyo engeri gye yayigirizaamu. Kuba yayigiriza nga nnannyinibuyinza, sso si ng'abannyonnyozi b'amateeka. Amangwago, omuntu aliko omwoyo omubi, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'aleekaana nnyo nti: “Otulanga ki ggwe Yesu Omunazaareeti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi! Ggwe Mutuukirivu wa Katonda.” Yesu n'aboggolera omwoyo ogwo omubi nti: “Sirika mangu, n'omuntu oyo muveeko!” Omwoyo omubi ne gujugumiza omuntu oyo, ne gumuvaako nga guwowoggana. Bonna abaaliwo ne bawuniikirira, nga bwe beebuuzaganya nti: “Ono wa ngeri ki? Enjigiriza ye mpya, ate ejjudde obuyinza! Era alagira emyoyo emibi ne gimuwulira” Okuva olwo, ettutumu lye ne libuna mu nsi ey'e Galilaaya yonna n'emiriraano. Olwava mu kkuŋŋaaniro, Yesu n'agenda negi. Yali yaakatuuka, ne bamubuulira nti nnyina wa muka Peetero omusujja gumuluma. Yesu n'agenda w'ali, n'amukwata ku mukono, n'amugolokosa. Amangwago, omusujja ne gumuwonako, n'atandika okubaweereza. Akawungeezi, ng'enjuba egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abaliko emyoyo emibi. Era abantu ab'omu kibuga ekyo bonna ne beeyiwa wabweru ku mulyango. N'awonya bangi abalina endwadde eza buli ngeri. N'abaliko emyoyo emibi, n'agibagobako, nga tagikkiriza kumwatuukiriza, kubanga gyali gimumanyi. Awo Yesu n'azuukuka ku makya nnyo, obudde nga tebunnalaba, n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu, n'abeera eyo ng'asinza Katonda. Simooni ne banne, ne bagenda nga bamunoonyereza. Bwe baamulaba, ne bamugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya.” Yesu n'abaddamu nti: “Tugende mu bubuga obulala obuliraanye wano, nayo njigirizeeyo, kubanga ekyo kye najjirira.” Bw'atyo n'atambula Galilaaya yonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era abantu abaliko emyoyo emibi ng'agibagobako. Awo omugenge n'ajja eri Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.” Yesu n'amukwatirwa ekisa, n'agolola omukono n'amukwatako, n'amugamba nti: “Njagala, wona.” Amangwago, ebigenge ne bimuwonako, n'alongooka. Yesu n'amukuutira nnyo era n'amusiibula amangwago, nga bw'amugamba nti: “Kino tokibuulirako muntu n'omu, wabula genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.” Naye omusajja ono bwe yagenda, n'atandika okulaalaasa wonna, nga Yesu bwe yali amuwonyezza. Olw'ekyo nga Yesu takyasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, wabula okubeera ebbali, mu bifo ebitaalimu bantu. Eyo abantu gye baamusanganga, nga bava wonna. Nga wayiseewo ennaku, Yesu n'akomawo mu kibuga Kafarunawumu. Abantu bwe baawulira ng'azze mu maka agamu, ne bakuŋŋaana bangi, nga ne mu luggya tebakyagyamu. Yesu bwe yali ng'abategeeza ekigambo kya Katonda, ne wajjawo abaamuleetera omulwadde akonvubye, nga yeetikkiddwa abantu bana. Bwe baalemwa okumutuusa awali Yesu, olw'obungi bw'abantu, ne basereekulula ekitundu ky'akasolya k'ennyumba Yesu mwe yali, ne bayisa omulwadde mu mwagaanya ogwo, ng'agalamidde ku katanda kwe baamuleetera. Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba akonvubye nti: “Mwana wange, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Olwo abannyonnyozi b'amateeka abaali batudde awo, ne balowooza mu mitima gyabwe nti: “Ono ayinza atya okwogera bw'atyo? Yeeyita Katonda? Ggwe kale ani alina obuyinza okusonyiwa ebibi, okuggyako Katonda?” Amangwago Yesu n'ategeera mu mwoyo gwe, ebyali mu birowoozo byabwe. Kyeyava abagamba nti: “Lwaki mulowooza mutyo mu mitima gyammwe? Ekisingako obwangu kye kiruwa, okugamba akonvubye nti: ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira, weetikke akatanda ko, otambule?’ Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira. Weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.” Amangwago, omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda ke, n'atambula. Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda, ne bagamba nti: “Kino tetukirabangako!” Awo Yesu n'addayo nate ku lubalama lw'Ennyanja ey'e Galilaaya. Abantu ne bajja bangi nnyo, n'abayigiriza. Bwe yali ng'atambula, n'alaba Leevi, omusolooza w'omusolo. Yesu n'amugamba nti: “Jjangu oyitenga nange.” Ne Leevi n'asituka n'amugoberera. Oluvannyumako, Yesu n'agenda n'abayigirizwa be ewa Leevi ku kijjulo. Abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi, nabo ne bagenda naye. Bonna ne batuula ne Yesu okulya. Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo, bwe baalaba Yesu ng'aliira wamu n'aboonoonyi n'abasolooza b'omusolo, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Lwaki aliira wamu n'abasolooza b'omusolo era n'aboonoonyi?” Yesu bwe yawulira kye babuuza, ye yennyini n'abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.” Mu kiseera ekyo, abayigirizwa ba Yowanne Omubatiza n'Abafarisaayo baali basiiba. Awo abantu abamu ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Lwaki abayigirizwa ba Yowanne Omubatiza n'abayigirizwa b'Abafarisaayo basiiba, naye ababo ne batasiiba?” Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza butalya, ng'awasizza omugole akyali nabo. Ekiseera kyonna ky'amala nabo, tebasiiba. Naye ekiseera kirituuka, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo balitandika okusiiba. “Omuntu tatunga mu lugoye, lukadde kiwero kiggya ekitannayozebwamu, kubanga bwe kyetugga, kyekutula ku lugoye olukadde, ne kitwalirako n'ekitundu kyalwo, olwo ekituli ne kyeyongera obunene. Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya.” Olumu Yesu yali ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku lunaku olwa Sabbaato, abayigirizwa be abaali bayise naye, ne bagenda nga banoga ku birimba. Abafarisaayo ne bagamba Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Sabbaato?” Ye n'abaddamu nti: “Temusomangako ekyo Dawudi kye yakola, bwe yali nga talina kyakulya? Ye ne be yali nabo, bwe baalumwa enjala, yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda. Kino yakikola, Abiyataari bwe yali nga ye Ssaabakabona, sso ng'emigaati egyo gyali tegikkirizibwa kuliibwako bantu balala, wabula bakabona bokka. Kyokka Dawudi yagiryako, era n'awaako n'abaali naye.” Awo Yesu n'agamba Abafarisaayo nti: “Olunaku lwa Sabbaato lwassibwawo lwa bulungi bwa muntu, sso omuntu teyatonderwa Sabbaato. N'olwekyo Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.” Awo Yesu n'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro. Era omwo mwalimu omuntu ow'omukono ogukaze. Waaliwo abantu abamu abaali baagala okuwawaabira Yesu. Ne bamwekaliriza amaaso, balabe oba anaawonya omuntu oyo ku Sabbaato, balyoke bagende bawaabe. Yesu n'agamba ow'omukono ogukaze nti: “Situka, oyimirire wano, bonna we bayinza okukulabira.” Awo n'abuuza abaaliwo nti: “Kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba kukola bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?” Naye bo ne ba sirika busirisi. Yesu n'abeebunguluza amaaso ng'abasunguwalidde, era nga munakuwavu olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu oyo nti: “Wamma golola omukono gwo.” N'agugolola, ne guwonera ddala. Amangwago, Abafarisaayo ne bafuluma, ne beetaba wamu n'abawagizi ba Herode, bateese nga bwe banaazikiriza Yesu. Awo Yesu n'alaga ku lubalama lw'ennyanja wamu n'abayigirizwa be. Abantu bangi ne bamugoberera, nga bava mu Galilaaya ne mu Buyudaaya, ne mu kibuga Yerusaalemu, ne mu kitundu ky'e Yidumeya, n'emitala w'Omugga Yorudaani, ne mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni. Bano bonna bajja gy'ali, kubanga baali bawulidde by'akola. Olw'abantu okuyitirira obungi, Yesu n'alagira abayigirizwa be bategekewo eryato limubeere kumpi, sikulwa ng'ekibiina ky'abantu kimunyigiriza. Yabalagira okukola kino kuba, nga bwe yali awonyezza abantu abangi, abalwadde bonna baali beenyigiriza, basobole okumutuukirira, bamukwateko. Abantu abaliko emyoyo emibi bwe baamulabangako, ne bagwa wansi mu maaso ge, ne baleekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!” Kyokka Yesu n'agaanira ddala emyoyo emibi okumwatuukiriza. Awo Yesu n'alaga mu kitundu eky'ensozi, n'ayita abo be yalondamu. Ne bajja w'ali, n'ayawulako kkumi na babiri, babeerenga wamu naye, era abatumenga okubunyisa obubaka bwe. N'abawa n'obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu. Ekkumi n'ababiri be yayawulako be bano: Simooni, gwe yayongerako erya Peetero; batabani ba Zebedaayo: Yakobo ne Yowanne, be yayongerako erya “Bowaneruge” (ekitegeeza nti: “Ababwatuka nga laddu”), ne Andereya, ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufaayo, ne Taddaayo, ne Simooni Omulwanirizi w'eggwanga lye, ne Yuda Yisikaryoti, eyalyamu Yesu olukwe. Awo Yesu n'ayingira mu nnyumba. Abantu bangi ne baddamu okukuŋŋaanira w'ali. Ye n'abayigirizwa be ne babulwawo n'akaseera okulya emmere. Ababe bwe baawulira, ne bagenda okumukwata, kubanga baali bagamba nti: “Alaluse?” Abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, ne bagamba nti: “Aliko Beeluzebuli omukulu w'emyoyo emibi, era akozesa buyinza bwa Beeluzebuli oyo okugigoba ku bantu.” Awo Yesu n'ayita abantu, n'abagamba mu ngero nti: “Sitaani ayinza atya okugoba Sitaani ku bantu? Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu, ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Ne mu maka, abantu baamu bwe batategeeragana, baawukana, amaka ago ne gasasika. Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obuyinza bwe ne bwawukanamu, aba takyaliwo, ng'azikiridde. “Tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu wa maanyi n'anyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kumusiba, olwo n'alyoka anyaga eby'omu nnyumba ye. “Mazima mbagamba nti: abantu bayinza okusonyiyibwa ebibi byonna, era bayinza okusonyiyibwa okwogera obubi mu ngeri yonna. Naye buli avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa, wabula aba akoze ekibi ky'asigala nakyo emirembe gyonna.” Kino Yesu yakyogera okuddamu abo abaali bagambye nti aliko omwoyo omubi. Awo baganda ba Yesu ne nnyina, ne bajja gy'ali, ne bayimirira wabweru, ne bamutumira nga bamuyita. Ekibiina ky'abantu kyali kitudde nga kimwetoolodde, ne bamugamba nti: “Laba, nnyoko ne baganda bo bali wabweru, baagala okukulaba.” Yesu n'abaddamu nti: “Baba bantu ba ngeri ki be mpita mmange ne baganda bange?” Awo ne yeebunguluza amaaso abantu abaali batudde awo nga bamwetoolodde, n'agamba nti: “Mmange ne baganda bange be bano. Buli akola Katonda by'ayagala, ye aba muganda wange, ye aba mwannyinaze, ye aba mmange.” Awo Yesu n'atandika nate okuyigiriza ng'ali ku lubalama lw'Ennyanja ey'e Galilaaya. Ekibiina ky'abantu abaamukuŋŋaanirako ne kiyitirira obunene. Kyeyava asaabala mu lyato n'atuula mu lyo, ku nnyanja. Kyo ekibiina ky'abantu ne kisigala ku lubalama. N'abayigiriza ebintu bingi ng'akozesa engero. Era mu kuyigiriza kwe, n'abagamba nti: “Muwulirize. Omusizi yagenda n'asiga ensigo. Bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ebinyonyi ne bijja ne bizirya. Ensigo endala ne zigwa mu ttaka ery'oku lwazi. Amangwago ne zimera, kubanga ettaka lyabuguumirira mangu olw'obutaba ggwanvu. Omusana bwe gwayaka ennyo, ne ziwotookerera. Era olw'okuba ng'emirandira gyazo gyali tegisse nnyo wansi mu ttaka, ne zikala. Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Bwe gaamera, ne gakulira wamu nazo, ne gaziziyiza okubala. N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi. Ne zimera, ne zikula, ne zibala ebirimba. Ebimu ne bibaamu ensigo amakumi asatu; ebirala, ensigo nkaaga; n'ebirala, ensigo kikumi.” Awo Yesu n'agamba nti: “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.” Awo abasinga obungi bwe baali nga bamaze okugenda, abayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'abalala, abaali basigadde ne Yesu, ne bamusaba abannyonnyole engero. Ye n'abagamba nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ekyama ekifa ku Bwakabaka bwa Katonda. Naye abantu abalala, buli kintu kibabuulirwa mu ngero: ‘Balyoke balabe, naye nga tebeetegereza; bawulire, naye nga tebategeera, sikulwa nga beenenya ne basonyiyibwa ebibi byabwe.’ ” Awo Yesu n'ababuuza nti: “Amakulu g'olugero luno temugategedde? Kale olwo muliyinza mutya okubaako n'olugero lwonna lwe mutegeera? Omusizi, ye muntu asiga ekigambo kya Katonda mu bantu. Abantu abamu bafaanana ng'ensigo ezaagwa ku mabbali g'ekkubo. Ekigambo bwe kibasigibwamu, bakiwulira, naye amangwago Sitaani ajja n'akibaggyamu. Abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka ery'oku lwazi. Bwe bawulira ekigambo, amangwago bakyaniriza n'essanyu. Naye olw'okuba bafaanana ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka, bamalawo akaseera katono. Okubonyaabonyezebwa oba okuyigganyizibwa olw'ekigambo kya Katonda bwe kujja, amangwago nga baterebuka. Abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Ekigambo bakiwulira, naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwalimbibwa ebyobugagga, n'okululunkanira ebyokufuna ebirala, bwe bifuga emitima gyabwe, biziyiza ekigambo okubayamba okukola ebikolwa ebirungi. Ate abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka eddungi. Mu bamu ne byeyongera emirundi amakumi asatu; mu balala emirundi nkaaga, ate mu balala emirundi kikumi.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Ettaala tereetebwa kukwekebwa mu kibbo, oba kuteekebwa wansi wa kitanda, wabula kuwanikibwa ku kikondo kyayo. Kale nno buli kintu ekikwekeddwa, kirikwekulwa. Era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu. Oba nga waliwo alina amatu ag'okuwulira, awulire.” Era n'abagamba nti: “Mwekkaanye bye muwulira. Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe, era mulyongerwako. Oyo alina ebingi alyongerwako n'ebirala. Ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.” Yesu n'ayongera okubagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n'engeri omuntu gy'asigamu ensigo mu ttaka. Omuntu ono ekiro yeebaka, emisana n'atunula. Zo ensigo ne zimera, ne zikula, nga ye omuntu tamanyi ngeri gye zimeramu, na gye zikulamu. Ettaka lye likuza ebimera ne bibala. Ebimera bino bisooka kuleeta bukoola, ne bizzaako ebirimba ebito. Ate oluvannyuma mu birimba ebyo, ne mubaamu empeke ezikuze. Empeke nga zengedde, olwo omuntu n'akwata akambe, kubanga amakungula gatuuse.” Yesu n'agamba nate nti: “Obwakabaka bwa Katonda tuyinza kubugeraageranya na ki? Oba lugero ki lwe tuyinza okukozesa okubunnyonnyola? Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali. Kano ke kasigo akasingira ddala obutono mu nsigo zonna ku nsi. Naye bwe kasigibwa mu ttaka, kamera ne kavaamu ekimera ky'enva ekisingira ddala ebimera eby'enva ebirala byonna obunene. Ne kyawula amatabi manene, ebinyonyi ne bisobola okuzimbamu ebisu, n'okwewogoma mu kisiikirize kyago.” Yesu yategeezanga abantu ekigambo kya Katonda ng'akozesa engero nnyingi ezifaananako na zino, okusinziira ku kye baasobolanga okutegeera. Yakozesanga ngero mu byonna bye yabategeezanga. Ate bwe yasigalanga n'abayigirizwa be bokka, bo ng'abannyonnyola byonna. Awo ku lunaku olwo lwennyini, obudde nga buwungedde, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuwunguke, tugende emitala w'ennyanja.” Awo abayigirizwa be ne bava mu kibiina ky'abantu, ne basaabala mu lyato Yesu mwe yali, ne bagenda naye. N'abantu abalala ne basaabala amaato, ne bagenda naye. Awo omuyaga ne gukunta, amayengo ne geeyiwa mu lyato, ne liba kumpi okujjula amazzi. Yesu yali mu kifo eky'emabega mu lyato nga yeebase, nga yeezizise omutto. Abayigirizwa be ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, ggwe tofaayo ng'ennyanja etutta?” Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, era n'alagira ennyanja nti: “Kkakkana, teeka!” Omuyaga ne gukoma, ennyanja n'eteekera ddala! Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Lwaki mutidde? Temunnaba kufuna kukkiriza?” Naye bo ne bakwatibwa ensisi, ne bagambagana nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Olaba n'omuyaga era n'amayengo bimuwulira!” Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasa. Yesu bwe yali yaakava mu lyato, omuntu aliko omwoyo omubi n'ava mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, n'amusisinkana. Omuntu oyo yasulanga mu mpuku ezo. Waali tewakyali muntu asobola kumukuuma nga musibe na kintu kyonna, wadde olujegere. Emirundi mingi yasibibwanga n'enjegere emikono n'amagulu, kyokka zonna n'azikutulakutula. Era tewaali muntu wa maanyi n'omu ayinza kumusobola. Bulijjo emisana n'ekiro, yasinziiranga mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, ne ku nsozi, n'awowoggana, era nga yeesala n'amayinja. Awo bwe yalengera Yesu, n'ajja gy'ali ng'adduka, n'amussaamu ekitiibwa ng'amufukaamirira. Era n'awowoggana nnyo nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu Omwana wa Katonda Atenkanika? Nkwegayiridde ku lw'ekisa kya Katonda, tombonyaabonya.” Yagamba bw'atyo, kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku muntu oyo. Awo Yesu n'agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne guddamu nti: “Erinnya lyange nze Ggye, kubanga tuli bangi.” Ne gumwegayirira nnyo nti: “Totugoba mu kitundu kya nsi kino!” Ku lusozi awo waaliwo eggana ly'embizzi nga zirya. Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu nti: “Tusindike mu mbizzi, ze tuba tuyingiramu.” N'agikkiriza, ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana eryali liweramu embizzi ng'enkumi bbiri ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi. Awo abaali bazirabirira ne badduka, ne bagenda bategeeza ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo. Ne batuuka awali Yesu, ne balaba omuntu eyabeerangako eggye ly'emyoyo emibi. Baamusanga atudde, ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya. Abo abaaliwo ng'emyoyo emibi giva ku muntu ono, era nga giyingira mu mbizzi, ne banyumiza abantu abazze. Olwo abantu ne beegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe. Bwe yali ng'asaabala mu lyato, omuntu eyagobwako emyoyo emibi n'amwegayirira amukkirize ayitenga naye. Kyokka Yesu n'agaana, era n'amugamba nti: “Ddayo ewammwe mu bantu bo, obabuulire byonna Mukama by'akukoledde, era nga bw'akukwatiddwa ekisa.” Awo omuntu oyo n'agenda n'atandika okubuulira ab'omu kitundu ky'e Dekapoli, byonna ebyamukolerwa Yesu. Bonna abaabiwulira ne beewuunya. Yesu bwe yasaabala mu lyato, n'alaga emitala w'ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abeera nabo ku lubalama. Awo omu ku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, ayitibwa Yayiro, n'ajja. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira kumpi n'ebigere bye, n'amwegayirira nnyo nti: “Kawala kange kali kumpi okufa. Jjangu ssebo, okakwateko, okawonye, kaleme kufa.” Awo Yesu n'agenda naye. Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, nga bagenda bamunyigiriza. Waaliwo omukazi eyali abonyeebonye n'obulwadde obw'ekikulukuto ky'omusaayi, okumala emyaka kkumi n'ebiri. Yali awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo bangi abaamujjanjaba, kyokka n'atawona, wabula ng'endwadde ye yeeyongera bweyongezi okuba embi. Bwe yawulira bye boogera ku Yesu, n'ajja gy'ali ng'ayita mu kibiina ky'abantu abaali bagoberera Yesu, nga bw'agamba mu mutima gwe nti: “Waakiri ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye, nnaawona.” Bwe yakikwatako, amangwago ekikulukuto ky'omusaayi ne kikalira. N'awulira mu mubiri gwe ng'awonye obulwadde bwe. Mu kaseera ako kennyini, Yesu n'awulira ng'obuyinza bwe obuwonya bukoze. N'akyukira ekibiina ky'abantu, n'abuuza nti: “Ani ankutte ku kyambalo?” Abayigirizwa be ne bamuddamu nti: “Naawe olaba abantu bakunyigiriza, ate n'obuuza nti ani ankutteko?” Awo Yesu ne yeebunguluza amaaso alabe amukutteko. Ye omukazi eyamanya ekimukoleddwa, n'ajja ng'atidde, era nga bw'akankana, n'afukamira mu maaso ga Yesu, n'amutegeeza amazima. Yesu n'amugamba nti: “Omuwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe, obulwadde bwo buwonere ddala.” Yesu yali akyayogera, ababaka abaava mu maka ga Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bajja. Ne bategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde, ate Omuyigiriza okyamuteganyiza ki?” Yesu bwe yawulira bano bye boogera, n'agamba Yayiro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.” Awo Yesu n'agaana abantu abalala okugenda naye, okuggyako Peetero n'abooluganda Yakobo ne Yowanne. Bwe baatuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, Yesu n'asangawo okwaziirana, ng'abantu bakaaba, era nga bakuba ebiwoobe. Bwe yayingira, n'abagamba nti: “Lwaki mwaziirana, lwaki mukaaba? Omwana tafudde, wabula yeebase.” Ne bamusekerera. Bwe yamala okugobawo abalala bonna, n'atwala abazadde b'omwana, n'abayigirizwa be abasatu, n'ayingira nabo mu kisenge omwana mw'ali. N'akwata omwana ku mukono, n'amugamba nti: “Talita kumi,” ekitegeeza nti: “Kawala ggwe, nkugamba, golokoka.” Amangwago, akawala akaali ak'emyaka ekkumi n'ebiri, ne kayimirira, ne katambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo! Yesu n'abakuutira nnyo, kino obutakibuulirako balala. Era n'abalagira okuwa omwana emmere alye. Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'alaga mu nsi y'ewaabwe, n'abayigirizwa be ne bagenda naye. Olunaku lwa Sabbaato bwe lwatuuka, n'atandika okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro. Abantu bangi abaaliwo. Bwe baawulira by'ayigiriza, ne bawuniikirira! Ne bagamba nti: “Bino byonna yabiggya wa? Magezi ga ngeri ki gano ge yaweebwa? Era asobola atya okukola ebyamagero bino? Ono si ye mubazzi, mutabani wa Mariya, era muganda wa Yakobo ne Yose, ne Yuda, ne Simooni? Era bannyina tebabeera kuno naffe?” Awo ne bamukwatirwa obuggya. Yesu n'abagamba nti: “Omulanzi assibwamu ekitiibwa wonna wonna, okuggyako mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba y'ewaabwe.” Era eno Yesu teyasobola kukolerayo byamagero, okuggyako okuwonyaayo abalwadde abatonotono, ng'abakwatako. Yeewuunya nnyo kubanga abantu baayo tebaalina kukkiriza. Awo n'agenda ng'ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo. Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abatuma babiri babiri. Era n'abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu. N'abakuutira nti: “Mu lugendo luno temugenda na kantu na kamu, okuggyako omuggo. Temutwala mmere, wadde ensimbi, oba ensawo ng'ez'abasabiriza. Naye mwambale engatto, era buli omu ayambale ekkanzu emu yokka, tatwala yaakubiri.” Era n'abagamba nti: “Buli kibuga kye muba mutuuseemu, musule mu maka g'abantu ababaanirizza, okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. Bwe mutuuka mu kifo ne batabaaniriza, oba ne bagaana okubawuliriza, nga muvaayo. Era bwe muba muvaayo, n'enfuufu eba ebakutte ku bigere mugyekunkumulangako, olw'okulabula abantu abo.” Awo abayigirizwa ne bagenda nga bategeeza abantu nti: “Musaanidde okuleka ebikolwa byammwe ebibi.” Ne bagoba emyoyo emibi mingi ku bantu. Ne basiiga abalwadde omuzigo ne babawonya. Awo Kabaka Herode n'awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna. Abamu nga bagamba nti: “Ye Yowanne Omubatiza azuukidde, kyava aba n'obuyinza okukola ebyamagero.” Naye abalala nga bagamba nti: “Ye Eliya.” N'abalala nti: “Mulanzi, omu ku balanzi ab'edda.” Herode bwe yabiwulira n'agamba nti: “Yowanne Omubatiza gwe natemako omutwe, ye azuukidde!” Herode yennyini ye yali alagidde, Yowanne akwatibwe era aggalirwe mu kkomera, kino kisanyuse Herodiya, Herode gwe yali awasizza, ng'amusigudde ku muganda we Filipo. Yowanne Omubatiza yagambanga Herode emirundi mingi nti: “Tokkirizibwa kusigula muka muganda wo n'omufuula mukazi wo.” Kino ne kireetera Herodiya okuwalana Yowanne, n'ayagala n'okumutta, kyokka nga tasobola. Herode yali atya Yowanne, ng'amanyi nti Yowanne musajja mwesimbu, era mutuukirivu, kyeyava amukuuma aleme kubaako kabi. Yayagalanga okumuwuliriza, newaakubadde buli lwe yamuwulirizanga, yeeraliikiriranga nnyo mu mutima. Naye olunaku lwatuuka, Herodiya n'afuna akakisa. Lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Herode. Herode n'afumba embaga, n'ayita abakungu be, n'abakulu b'abaserikale, n'abantu abatutumufu mu Galilaaya. Muwala wa Herodiya bwe yajja n'azina, n'asanyusa nnyo Herode n'abagenyi be. Awo kabaka n'agamba omuwala nti: “Nsaba kyonna ky'oyagala, nnaakikuwa.” N'alayira n'okulayira nti: “Kyonna kyonna ky'ononsaba nnaakikuwa, ne bw'onooyagala obwakabaka bwange tubugabanire wakati.” Awo omuwala n'afuluma, ne yeebuuza ku nnyina nti: “Kiki kye mba nsaba?” Nnyina n'addamu nti: “Omutwe gwa Yowanne Omubatiza gw'oba osaba.” Amangwago omuwala n'ayanguwako okudda eri kabaka, n'amusaba nti: “Kye njagala, kwe kumpeerawo mu kaseera kano, omutwe gwa Yowanne Omubatiza, nga guteekeddwa ku ssowaani.” Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, naye olw'okuba nga yali alayidde, ate nga n'abagenyi be bawulidde, n'atayagala kumumma ky'amusabye. Amangwago kabaka n'atuma omuserikale omukuumi w'ekkomera okuleeta omutwe gwa Yowanne. Gwe yatuma, n'agenda mu kkomera n'atemako Yowanne omutwe. Era n'aguleetera ku ssowaani, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina. Abayigirizwa ba Yowanne bwe baamanya, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguziika. Awo abatume ne bakomawo awali Yesu, ne bamunyumiza byonna bye baali bakoze ne bye baali bayigirizza. Ye n'abagamba nti: “Mujje, tugende mu kifo mwe tunaasobolera okuba ffekka, muwummuleko.” Baali babuliddwa n'akaseera okulya emmere olw'abantu abangi abajjanga we bali. Bano baabanga bavaawo, ng'ate abalala batuuka. Awo ne basaabala mu lyato, ne bagenda bokka, mu kifo ekitaalimu bantu. Naye abantu bangi ne babalaba nga bagenda, ne babategeera nti be bo. Olwo ne bava mu bibuga byonna, ne bayita ku lukalu, nga bagenda badduka, ne babeesooka mu kifo Yesu n'abayigirizwa be gye baali balaga. Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba abantu bangi abakuŋŋaanye, n'abakwatirwa ekisa, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba! Awo n'amala ekiseera kiwanvu ng'abayigiriza. Abayigirizwa bwe baalaba ng'obudde bunaatera okuwungeera, ne bajja awali Yesu, ne bamugamba nti: “Ekifo kino kya ddungu, ate n'obudde buubuno buwungeera. Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bubuga obuliraanye wano.” Yesu n'abaddamu nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Bo ne bamubuuza nti: “Oyagala tugende tubagulire emigaati egya denaari ebikumi bibiri, tubawe balye?” Ye n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka? Mugende mulabe” Bwe baamala okwetegereza, ne bamugamba nti: “Etaano, n'ebyennyanja bibiri.” Awo Yesu n'alagira abantu bonna batuule ku muddo mu bibinja. Ne batuula nga bali mu bibinja, ebimu nga birimu abantu kikumi kikumi, ebirala amakumi ataano ataano. Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso eri eggulu, ne yeebaza Katonda. N'amenyaamenya mu migaati, n'agiwa abayigirizwa be bagigabire abantu. Era n'ebyennyanja ebibiri n'abimenyaamenyamu, bonna ne bafuna. Buli muntu n'alya n'akkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya ebitundutundu by'emigaati n'eby'ebyennyanja ebyasigalawo, ne bijjuza ebibbo kkumi na bibiri. Ku bantu abaalya, omuwendo gw'abasajja gwali enkumi ttaano. Amangwago Yesu n'alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bamukulemberemu, bagende e Betusayida, emitala w'ennyanja, nga ye akyasiibula abantu. Bwe yamala okubasiibula, n'ayambuka ku lusozi okusinza Katonda. Obudde we bwazibira, ng'abayigirizwa be bali mu lyato ku nnyanja, Yesu ye ng'ali yekka ku lukalu. Awo n'abalengera nga bategana okuvuga eryato n'enkasi, olw'omuyaga ogwali gubafuluma gye balaga. Obudde bwali bunaatera okukya, n'ajja gye bali ng'atambula ku mazzi. N'aba ng'ayagala okubayitako. Naye bo bwe baamulaba ng'atambula ku mazzi, ne balowooza nti muzimu. Ne baleekaana, kubanga bonna baamulaba, ne batya nnyo. Kyokka amangwago n'ayogera nabo, n'abagamba nti: “Mugume omwoyo, ye nze. Temutya!” Awo n'asaabala mu lyato mwe baali. Omuyaga ne gulekera awo okukunta. Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo, kubanga ekyewuunyo eky'emigaati baali tebategedde makulu gaakyo. Emitima gyabwe gyali mikakanyavu. Bwe baatuuka emitala w'ennyanja, mu kitundu eky'e Gennesareeti, ne bagoba ku lubalama. Bwe baava mu lyato, abantu ne bategeera Yesu amangwago. Ne badduka nga bayita buli wantu mu kitundu ekyo, ne baleeta abalwadde, nga babasitulidde ku butanda, ne babatwala wonna we baawuliranga nti Yesu w'ali. Wonna wonna we yalaganga, mu butale, mu bibuga, oba mu byalo, abantu bassanga abalwadde mu bifo ebikuŋŋaanirwamu, ne bamwegayirira akkirize waakiri bakwate ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako, baawona. Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, bwe baakuŋŋaanira awali Yesu, ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga baliisa engalo ezitatukuziddwa, kwe kugamba, nga tebazinaabye ng'obulombolombo bw'Abayudaaya bwe bulagira. Abafarisaayo n'Abayudaaya abalala bonna, baakuumanga empisa ya bajjajjaabwe ey'obutalya nga tebamaze kunaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwabwe bwe bulagira. Era bye baggyanga mu katale nga tebabirya, okuggyako nga bimaze okutukuzibwa. Baalina n'obulombolombo obulala bungi bwe baakuumanga, ng'okwoza ebikopo, ebibya, n'entamu ez'ekikomo. Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne babuuza Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe, naye ne balya ng'engalo zaabwe tezitukuziddwa?” Yesu n'abaddamu nti: “Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi eyaboogerako, bye yawandiika bituufu nti: ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe tegindiiko. N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu, kubanga ebigambo eby'abantu obuntu, bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’ “Muleka ekiragiro kya Katonda, ne mukuuma obulombolombo bw'abantu.” N'abagamba nate nti: “Mukola bubi okugaana ekiragiro kya Katonda, mulyoke mukuume obulombolombo bwammwe. Musa yalagira nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’ “Naye mmwe mugamba nti: ‘Singa omuntu ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye yandimuwadde okumuyamba, kifuuse Korubaani,’ ekitegeeza nti kiwongeddwa eri Katonda, olwo nga temukyamukkiriza kubaako kantu na kamu k'akolera kitaawe oba nnyina. Bwe mutyo ekyo Katonda ky'agamba ne mukidibya nga mugoberera obulombolombo bwammwe bwe muyigiriza. Era mukola n'ebirala bingi eby'engeri eyo.” Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu nate, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mumpulirize mwenna, era mwetegereze. Ebyo omuntu by'alya, si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe, bye bizoonoona. [ Oba nga waliwo alina amatu ag'okuwulira, awulire.”] Olwo n'aleka awo ekibiina ky'abantu, n'ayingira mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g'ekyo ky'ayogedde. N'abagamba nti: “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temulaba nti omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze? Emmere teyingira mu mutima gwe, wabula egenda mu lubuto, mw'eva n'efuluma.” (Yesu, mu kwogera bw'atyo, yalaga nti tewali byakulya, abantu bye bateekwa okuziza). Era n'agamba nti: “Omuntu by'akola ne by'ayogera, bye byonoona empisa ze, kubanga mu mutima gw'omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu, obwenzi, okululunkanira ebintu, ebikolwa ebibi ebya buli ngeri, obukumpanya, obuluvu, obuggya, okwogera obubi ku balala, okwekulumbaza, n'obugwagwa. Ebintu bino byonna ebibi biva mu mutima, ne byonoona empisa z'omuntu.” Yesu bwe yava awo, n'alaga mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni, n'abeera mu maka agamu, n'atayagala bantu bamanye, kyokka n'atasobola kwekisa. Waaliwo omukazi eyalina kawala ke akaliko omwoyo omubi. Bwe yawulira ettutumu lya Yesu, amangwago n'agenda gy'ali, n'afukamira okumpi n'ebigere bye. Omukazi oyo teyali Muyudaaya. Yali nzaalwa y'e Fenikiya mu nsi y'e Siriya. N'asaba Yesu agobe omwoyo omubi ku kawala ke. Yesu n'amuddamu nti: “Leka abaana, be baba basooka okulya bakkute, kubanga bwe baba tebannakkuta, si kirungi okuddira emmere yaabwe, n'esuulirwa embwa.” Omukazi n'addamu Yesu nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'embwa, bwe ziba wansi w'emmeeza, zirya ku bukunkumuka obuva ku mmere y'abaana.” Yesu n'amugamba nti: “Olw'ebigambo bino by'ozzeemu, weddireyo eka, muwala wo, omwoyo omubi gumuvuddeko.” Awo n'addayo eka, n'asanga nga muwala we agalamidde ku buliri, era ng'omwoyo omubi gumuvuddeko. Awo Yesu n'ava mu kitundu eky'e Tiiro, n'alaga ku nnyanja y'e Galilaaya, ng'ayita mu bitundu eby'e Sidoni ne Dekapoli. Ne wabaawo abaamuleetera kiggala, era eyali tasobola kwogera bulungi, ne bamwegayirira amukwateko. Awo Yesu n'aggya omuntu ono mu kibiina ky'abantu, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awanda amalusu, n'amukwata ku lulimi. Ate n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'assa ekikkowe, n'agamba omuntu oyo nti: “Effata”, ekitegeeza nti: “Zibuka.” Awo amatu ge ne gazibuka, n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka, n'ayogera bulungi. Yesu n'akuutira abantu, kino obutakibuulirako balala. Naye gye yakomya okubakuutira, ate bo gye baakomya okukibunyisiza ddala wonna. Bonna abaakiwulira, ne bawuniikirira nnyo, nga bagamba nti: “Byonna abikola bulungi: ababadde abaggavu b'amatu, abasobozesa okuwulira; ate ababadde bakasiru, n'abasobozesa okwogera.” Awo mu nnaku ezo, abantu ne bakuŋŋaana bangi nate. Bwe baali nga tebakyalina mmere, Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya. Bwe mbasiibula okuddayo ewaabwe ng'enjala ebaluma, bajja kuzirikira mu kkubo, kubanga abamu baava wala.” Abayigirizwa be ne baddamu nti: “Mu ddungu omuntu aggya wa emigaati egiyinza okukkusa abantu bano?” Ye n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka!” Ne baddamu nti: “Musanvu.” Awo n'alagira abantu batuule wansi. N'atoola emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n'agimenyaamenyamu, n'agikwasa abayigirizwa be bagigabire abantu. Ne bagibagabira. Baalinawo n'obwennyanja mpa we buzira. Bwe yamala okwebaza Katonda, nabwo n'alagira babubagabire. Abantu ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa be ne bakuŋŋaanya ebitundutundu ebyalemerawo, ne bijjuza ebibbo musanvu. Abantu baali bawera ng'enkumi nnya. Awo Yesu n'abasiibula. Amangwago n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'alaga mu kitundu eky'e Dalumanuta. Abafarisaayo ne bagenda eri Yesu, ne batandika okuwakana naye, ne bamusaba nga bamukema, abawe akabonero akalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda. Awo n'assa ekikkowe, olw'okulumwa mu mwoyo gwe, n'agamba nti: “Abantu b'omulembe guno lwaki basaba akabonero? Mazima mbagamba nti ab'omulembe guno tewali kabonero kanaabaweebwa.” N'abavaako, n'asaabala mu lyato nate, n'alaga ku ludda olulala olw'ennyanja. Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati. Wabula mu lyato baalinamu omugaati gumu. Yesu n'abagamba nti: “Mulabuke, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafarisaayo, n'ekizimbulukusa ekya Herode.” Bo ne bagambagana nti: “Tetulina migaati!” Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? N'okutuusa kati temunnaba kwetegereza na kutegeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu? Mulina amaaso, naye temulaba? N'amatu ge mulina tegawulira? Era temujjukira? Bwe nagabira abantu enkumi ettaano emigaati etaano, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Kkumi na bibiri.” “Ate bwe nagabira abantu enkumi ennya emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Ebibbo musanvu.” Awo n'ababuuza nti: “N'okutuusa kati temunnaba kutegeera?” Awo Yesu n'abayigirizwa be, ne batuuka e Betusayida. Abantu abamu ne baleeta muzibe awali Yesu, ne bamwegayirira amukwateko. Yesu n'akwata muzibe ku mukono, n'amuggya mu kabuga ako. Bwe yamala okufujja amalusu ku maaso ga muzibe, n'okugakwatako, n'amubuuza nti: “Oliko ky'olaba?” Muzibe n'alabamu katono, n'agamba nti: “Ndaba abantu abatambula, wabula bandabikira ng'emiti.” Yesu n'ayongera okumukwata ku maaso, ne gazibukira ddala, n'alaba bulungi buli kintu. Yesu n'agamba eyali muzibe nti: “Genda ewammwe, n'eri mu kabuga toddayo.” Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'omu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo. Bwe baali nga batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba banjogerako, bampita ani?” Ne bamutegeeza nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza. Abalala bagamba nti ggwe Eliya, ate abalala nti oli omu ku balanzi.” Awo n'ababuuza nti: “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'amuddamu nti: “Ggwe Kristo.” Yesu n'abakuutira, kino baleme kukibuulirako muntu mulala. Awo Yesu n'atandika okubayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka. Era alittibwa, naye nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.” Bino yabyogera mu lwatu. Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya. Kyokka Yesu bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba abayigirizwa be abalala, n'akangukira Peetero nti: “Nva mu maaso, oli Sitaani! Ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!” Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, n'abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yetikka omusaalaba gwe, n'angoberera. Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange n'olw'Amawulire Amalungi, alibulokola. “Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe? Tewali kintu na kimu, muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe. Buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi mu bantu b'omulembe guno abava ku Katonda era ababi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika abatuukirivu.” Awo Yesu n'ayongera okubagamba nti: “Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba ng'Obwakabaka bwa Katonda buzze na maanyi.” Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, ne Yakobo, ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu. Awo endabika ye n'efuuka nga balaba. Ebyambalo bye ne bimasamasa, ne bitukula nnyo nga tewali mwozi n'omu ku nsi eyandisobodde okubitukuza okwenkana awo. Olwo ne balaba Eliya ne Musa nga boogera ne Yesu. Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” Peetero yagamba bw'atyo, ng'ebyokwogera bimubuze, kubanga ye ne banne, baali batidde nnyo. Awo ekire ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, era eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, mumuwulirize.” Ate amangwago bwe beebunguluza amaaso, ne batalaba muntu mulala ali nabo, wabula Yesu yekka. Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.” Era nabo ne bagondera ky'abagambye, wabula ne beebuuzaganya nti: “Ategeezezza ki bw'ayogedde ku kuzuukira?” Awo ne bamubuuza nti: “Lwaki abannyonnyozi b'amateeka bagamba nti Eliya ye ateekwa okusooka okujja?” Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya ye ateekwa okusooka okujja atereeze byonna. Wabula, lwaki kyawandiikibwa nti Omwana w'Omuntu ateekwa okubonyaabonyezebwa ennyo, era n'okunyoomebwa? Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, era abantu baamukolako byonna bye baayagala, ng'ebyawandiikibwa bwe byamwogerako.” Awo Yesu n'abayigirizwa be abasatu, bwe baava ku lusozi, ne basanga ekibiina ky'abantu kinene, nga kyetoolodde abayigirizwa be abalala, era ng'abannyonnyozi b'amateeka bawakana nabo. Abantu bonna bwe baalaba Yesu, amangwago ne bajjula essanyu, ne badduka okugenda gy'ali, ne bamwaniriza. Awo ye n'abuuza abayigirizwa be nti: “Kiki kye muwakana nabo?” Omu ku bantu abangi abaaliwo, n'amuddamu nti: “Muyigiriza, nakuleetedde mutabani wange, aliko omwoyo omubi ogumugaana okwogera. Buli lwe gumukwata, gumukuba ebigwo, n'abimba ejjovu, n'aluma amannyo, era n'alambaala. Nasabye abayigirizwa bo okugumugobako ne balemwa.” Yesu n'abaddamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere.” Awo ne bamumuleetera. Omwoyo omubi bwe gwalaba Yesu, amangwago ne gujugumiza omulenzi, n'agwa wansi, ne yeevulungula, nga bw'abimba ejjovu. Yesu n'abuuza kitaawe w'omulenzi nti: “Amaze bbanga ki ng'akwatiddwa omwoyo guno omubi?” Ye n'addamu nti: “Okuviira ddala mu buto. Era emirundi mingi gumusuula mu muliro, oba mu mazzi, gumutte. Naye tukwatirwe ekisa, otuyambe, singa osobola.” Yesu n'amuddamu nti: “Ogambye nti: ‘Singa osobola?’ Manya nti byonna bisoboka, omuntu bw'aba n'okukkiriza.” Amangwago, kitaawe w'omulenzi n'addamu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Nzikiriza, wabula nnyamba ssebo okukkiriza kwange kuggweemu okubuusabuusa!” Yesu bwe yalaba abantu abalala bangi nga nabo bajja badduka, n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Mwoyo ggwe omubi ogutayogera, era ogwaziba amatu, nkulagira nti omulenzi muveeko, era tomuddangako nate.” Awo bwe gwamala okuleekaana n'okujugumiza ennyo omulenzi, ne gumuvaako, n'aba ng'afudde. Era abasinga obungi ne bagamba nti: “Afudde!” Kyokka Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa, era omulenzi n'ayimirira. Oluvannyuma, Yesu bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?” Ye n'abaddamu nti: “Tewali kirala kye muyinza kugobesa mwoyo mubi gwa ngeri eno ku muntu, okuggyako okusaba Katonda.” Yesu n'abayigirizwa be bwe baava awo, ne bayita mu Galilaaya, Yesu n'atayagala bantu balala bamanye, kubanga yali n'abayigirizwa be ng'abayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu, era bajja kumutta, wabula nga bamaze okumutta, waliyitawo ennaku ssatu n'azuukira.” Kyokka kye yabagamba tebaakitegeera, ate ne batya okumubuuza. Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka e Kafarunawumu. Bwe baamala okuyingira mu nnyumba, Yesu n'ababuuza nti: “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?” Naye bo ne basirika, kubanga mu kkubo baali bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo. Awo Yesu n'atuula n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli ayagala okuba ow'olubereberye, ateekwa okuba asembayo mu bonna, era ateekwa okuba omuweereza wa bonna.” Awo n'ayita omwana omuto, n'amugamba okuyimirira we bayinza okumulabira. Namulera, olwo n'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana omuto ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba tayanirizza nze, wabula aba ayanirizza oyo eyantuma.” Awo Yowanne n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tugezaako okumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.” Yesu n'addamu nti: “Temumuziyiza, kubanga buli akola ebyamagero ng'akozesa erinnya lyange, tasobola, nga waakayitawo akaseera katono, okunjogerako obubi. Buli atatulwanyisa, taba mulabe waffe. Mazima mbagamba nti buli abawa mmwe eggiraasi y'amazzi okunywa, kubanga muli ba Kristo, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa. “Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandimusingidde obulungi kwe kumusiba ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja. Era singa omukono gwo gukukozesa ekibi, gutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli wa mukono gumu, okusinga lw'osigaza emikono gyombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [ omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.”] Oba singa okugulu kwo kukukozesa ekibi, kutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli mulema, okusinga lw'osigaza amagulu gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [ omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.] “Oba singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu. Kirungi oyingire Obwakabaka bwa Katonda ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu. “Buli muntu alikumwamu omuliro, ng'emmere bw'erungwamu omunnyo. Omunnyo gwa mugaso, naye singa gusaabulukuka, muyinza mutya okuguzzaamu obuka bwagwo? Mube n'omunnyo mu mpisa zammwe, era mutabagane.” Awo Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'alaga mu kitundu eky'e Buyudaaya, ne mu kitundu eky'oku ludda olulala olw'Omugga Yorudaani. Abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira w'ali nate, n'abayigiriza nga bwe yali amanyidde okukola. Abamu ku Bafarisaayo ne bajja w'ali ne bamubuuza nga bamukema nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we?” Ye n'abaddamu nti: “Musa yabalagira ki?” Ne bagamba nti: “Musa yakkiriza omusajja okukola ekiwandiiko ekikakasa bw'agobye mukazi we, olwo n'alyoka amweggyirako ddala.” Yesu n'abaddamu nti: “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe, Musa kyeyava abateerawo ekiragiro ekyo. Naye okuva ku ntandikwa ensi lwe yatondebwa, ‘Katonda yatonda omusajja n'omukazi. N'olwekyo omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, n'abeera ne mukazi we, bombi ne baba omuntu omu.’ Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.” Bwe baddayo mu nnyumba, abayigirizwa ne babuuza Yesu ku nsonga eyo. N'abaddamu nti: “Buli agoba mukazi we, ate n'awasa omukazi omulala, aba azzizza omusango ogw'obwenzi. Era singa omukazi anoba ewa bba, ate n'afumbirwa omusajja omulala, aba ayenze.” Abantu abamu baali baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, naye abayigirizwa be ne babaziyiza nga bababoggolera. Yesu bwe yalaba abayigirizwa be kye bakola, n'asunguwala, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda. Mazima mbagamba nti buli muntu atakkiriza kwesiga Katonda, ng'omwana omuto bwe yeesiga bakadde be, si wa kuyingira Bwakabaka bwa Katonda.” Awo n'alera abaana ano abato, n'abawa omukisa ng'abakwatako. Awo Yesu bwe yali ng'atandika olugendo lwe, omusajja n'ajja gy'ali ng'adduka, n'afukamira mu maaso ge, n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, kiki kye nteekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu n'amugamba nti: “Lwaki ompise omulungi? Tewali mulungi okuggyako Katonda yekka. Ebiragiro bya Katonda obimanyi nti: Tottanga muntu, toyendanga, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, tolyazaamaanyanga. Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” Omusajja ono n'addamu Yesu nti: “Muyigiriza, ebiragiro ebyo byonna nabituukiriza okuviira ddala mu buto, n'okutuusa kati.” Awo Yesu bwe yamutunuulira, n'amusiima, n'amugamba nti: “Obulwako ekintu kimu ky'oteekwa okukola. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, olyoke ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.” Olwawulira ebyo, omusajja oyo, n'alabika nga tasanyuse, era n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina ebyobugagga bingi. Yesu ne yeebunguluza abaaliwo amaaso, n'agamba nti: “Abagagga nga kiribabeerera kizibu okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!” Abayigirizwa be ne bawuniikirira olw'ebigambo bye. Kyokka Yesu n'abagamba nate nti: “Abange, nga kizibu okuyingira Obwakabaka bwa Katonda! Kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!” Awo ne bawuniikirira nnyo, ne bagambagana nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?” Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Abantu tebayinza kwerokola, wabula Katonda ye ayinza okubalokola, kubanga Katonda ayinza byonna.” Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Ssebo, ffe twaleka ebyaffe byonna, tulyoke tuyitenga naawe.” Yesu n'addamu nti: “Mazima mbagamba nti buli muntu eyaleka ennyumba ye, oba baganda be, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana be, oba ekibanja kye, ku lwange n'olw'Amawulire Amalungi, alifuna mu bulamu buno obw'oku nsi, emirundi kikumi: ennyumba, baganda be, bannyina, abazadde be abakazi, abaana, n'ebibanja, awamu n'okuyigganyizibwa. Era mu biseera eby'omu maaso, alifuna obulamu obutaggwaawo. Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma, era bangi ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.” Yesu n'abaali naye, baali mu lugendo, nga bambuka e Yerusaalemu. Yesu yali abakulembeddemu, ng'abeesuddeko ebbanga. Abayigirizwa be ne bawuniikirira, era abantu abalala abaali babavaako emabega ne batya. Awo n'azza nate abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ku bbali, n'atandika okubategeeza ebyali bigenda okumutuukako. N'abagamba nti: “Mwetegereze, kati tugenda e Yerusaalemu; era eyo Omwana w'Omuntu anaaweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa, era bamuweeyo mu b'amawanga amalala. Abo bo bajja kumusekerera, bamuwandire amalusu, bamukubise embooko eziriko amalobo agasuna, era bajja kumutta. Wabula nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.” Awo Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo, ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.” Yesu n'ababuuza nti: “Kiki kye mwagala mbakolere?” Ne bamuddamu nti: “Bw'olituula ku ntebe yo eyeekitiibwa mu Bwakabaka bwo, twagala otukkirize tukuliraane, ng'omu atudde ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.” Yesu n'abagamba nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako, oba okubatizibwa mu ngeri gye ŋŋenda okubatizibwamu?” Bo ne bamuddamu nti: “Tusobola.” Yesu n'abagamba nti: “Ekikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako, ddala mulikinywako, era mulibatizibwa mu ngeri gye ŋŋenda okubatizibwamu. Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa.” Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira Yakobo ne Yowanne. Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi nti abayitibwa abafuzi b'abantu ab'ensi, baagala kuweerezebwa era ababa n'obuyinza bafugisa bukambwe. Naye mu mmwe si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne, era buli ayagala okuba ow'olubereberye, ateekwa okuba omuddu wa bonna. N'Omwana w'Omuntu teyajjirira kuweerezebwa, wabula okuweereza, era n'okuwaayo obulamu bwe ng'omutango okununula abangi.” Awo Yesu n'abayigirizwa be, n'ekibiina ky'abantu kinene, ne batuuka e Yeriko. Bwe baali bavaayo, ne basanga muzibe atudde ku mabbali g'ekkubo, ayitibwa Barutimaayo, eyasabirizanga. Muzibe ono yali mutabani wa Timaayo. Barutimaayo oyo bwe yawulira nti Yesu Omunazaareeti ye ayitawo, n'atandika okwogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Yesu Omuzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!” Abantu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!” Awo Yesu n'ayimirira, n'agamba nti: “Mumuyite ajje.” Ne bamuyita, ne bamugamba nti: “Guma omwoyo, situka, akuyita.” Awo n'asuula eri ekkooti ye, n'asituka mangu, n'ajja awali Yesu. Yesu n'amugamba nti: “Oyagala nkukolere ki?” Muzibe n'amuddamu nti: “Ssebo, nzibula amaaso, nsobole okulaba.” Awo Yesu n'amugamba nti: “Kale genda, owonye olw'okukkiriza kwo.” Amangwago, n'asobola okulaba, era n'agenda ne Yesu. Awo Yesu n'abayigirizwa be, bwe baali basemberedde Ekibuga Yerusaalemu, kwe kugamba, nga batuuse e Betufaage ne Betaniya, okumpi n'Olusozi olw'Emiti Emizayiti, Yesu n'atuma babiri ku bayigirizwa be nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugisumulule mugireete. Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki endogoyi mugisumulula?’ Muddamu nti: ‘Mukama waffe agyetaaga, era ajja kulagira bagizze mangu wano.’ ” Awo ne bagenda, ne basanga endogoyi entoototo esibiddwa ku mulyango, ng'eyimiridde wabweru mu luguudo, ne bagisumulula. Abamu ku baali bayimiridde awo, ne bababuuza nti: “Mukola ki? Lwaki endogoyi mugisumulula?” Abayigirizwa ne babaddamu nga Yesu bwe yali agambye. Bali ne babaleka bagende. Awo abayigirizwa ne batwalira Yesu endogoyi, ne bagissaako ekkooti zaabwe, Yesu n'agyebagala. Bangi ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne baaliiramu obutabi bw'emiti obuliko amakoola, bwe baatema mu nnimiro. Awo abaali bakulembedde, n'abaali bava emabega, ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Mukama atenderezebwe.” Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa. Obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi obujja okuzzibwawo buweereddwa omukisa. Mukama, ali mu ggulu, atenderezebwe. Awo Yesu n'atuuka mu Yerusaalemu, n'ayingira mu Ssinzizo. Bwe yamala okwebunguluza amaaso okulaba ebintu byonna, n'afuluma, n'alaga e Betaniya wamu n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, kubanga obudde bwali bunaatera okuwungeera. Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bava e Betaniya, Yesu n'alumwa enjala. Bwe yalengera omuti omutiini oguliko amakoola, n'agenda okulaba oba nga anaagusangako ebibala. Bwe yagutuukako, n'atasangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka, kubanga si kye kyali ekiseera emitiini mwe gibalira. N'agugamba nti: “Okuva kati tewabanga alya ku bibala byo nate!” Ebigambo bino abayigirizwa be ne babiwulira. Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baatuuka e Yerusaalemu, Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'atandika okugobamu abo abaali batundiramu n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batunda enjiibwa. Era n'aziyiza buli muntu okuyisa ebintu mu Ssinzizo. Awo n'ayigiriza abaaliwo nti: “Tekyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba abantu b'amawanga gonna mwe banansinzizanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi!” Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baawulira ebigambo ebyo, ne basala amagezi ag'okuzikiriza Yesu. Baali bamutidde, kubanga ekibiina ky'abantu kyonna kyali kiwuniikiridde olw'enjigiriza ye. Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'abayigirizwa be ne bava mu kibuga. Enkeera ku makya, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bayitawo, ne balaba omuti omutiini guli nga gukaze okuviira ddala ku kikolo. Awo Peetero n'ajjukira, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, laba, omuti omutiini gwe wakolimidde gukaze!” Yesu n'abaddamu nti: “Mube n'okukkiriza mu Katonda. Mazima mbagamba nti singa omuntu agamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja, kino kirimukolerwa, kasita tabuusabuusa mu mutima gwe, wabula n'akkiriza nti ky'agamba kinaatuukirira.’ N'olwekyo mbagamba nti: buli kye musaba Katonda, mukkirize nti mukifunye, era mulikifuna. “Era buli lwe muyimusa emitima gyammwe eri Katonda, singa wabaawo aba akoze ekibalumya mmwe, mumusonyiwe, olwo Kitammwe ali mu ggulu alyoke nammwe abasonyiwe ebibi byammwe. [ Naye singa temusonyiwa, olwo ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa bibi byammwe.”] Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bakomawo nate e Yerusaalemu. Yesu bwe yali atambula mu Ssinzizo, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagenda gy'ali. Ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza buno okubikola”? Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Singa munziramu, olwo nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola ebintu bino. Ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda, oba bantu? Munziremu.” Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Tuddemu nti: Katonda ye yamutuma? Anaatubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza?’ Oba tuddemu nti: abantu be baamutuma?” Kino ne bakitya: kubanga abantu bonna baali bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala. Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Kale nno nange siibabuulire buyinza bwe nnina okukola ebintu bino.” Awo Yesu n'atandika okwogera nabo mu ngero, n'agamba nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala abakuumi mwe balengerera, n'agissaamu abapangisa n'alaga mu nsi ey'ewala. “Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Awo omuddu ne bamukwata ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu. “N'abatumira nate omuddu omulala, ne bamukuba olubale, ne bamuswazaswaza. Era n'atuma omulala, oyo ne bamutta. N'abalala bangi ne babayisa mu ngeri ye emu, abamu ne babakuba, abalala ne babatta. “Yali akyalinawo omuntu omulala omu, ye mutabani we omwagalwa. Ono gwe yasembyayo okubatumira, ng'agamba nti: ‘Mutabani wange banaamussaamu ekitiibwa.’ Kyokka abapangisa abo ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika, mujje tumutte, obusika buliba bwaffe!’ Awo ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu. “Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu kiki ky'alikola? Alijja n'atta abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala. Ddala ekyawandiikibwa mwali mukisomye ekigamba nti: ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro. Ekyo Mukama ye yakikola, ne tukiraba, ne tukyewuunya.’ ” Awo abalabe ba Yesu bwe baategeera nti olugero olwo aluleese nga lufa ku bo, ne bagezaako okumukwata, kyokka ne batya ekibiina ky'abantu, ne bamuleka ne bagenda. Abafarisaayo n'abawagizi ba Herode abamu, ne batumibwa okutega Yesu mu bigambo. Awo ne bajja ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Kaakati ssebo, tubuulire, kikkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tekikkirizibwa? Tuteekwa okugumuwa oba tetuteekwa?” Yesu n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti: “Lwaki munkema? Mundeetere ssente ngirabe.” Ne bagireeta. Ye n'ababuuza nti: “Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne baddamu nti: “Bya Kayisaari.” Yesu n'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.” Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’ “Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana. Owookubiri n'awasa nnamwandu w'oli omubereberye, era n'ono n'afa nga talese mwana. N'owookusatu bw'atyo. Bonna omusanvu baawasa omukazi oyo, kyokka ne batamuzaalamu mwana. Oluvannyuma, bonna nga bamaze okufa, omukazi naye n'afa. “Kale ku lunaku olw'okuzuukira, abantu bwe balizuukira, omukazi oyo aliba muk'ani? Bonna omusanvu baamuwasa!” Yesu n'abagamba nti: “Muwubwa, era ekibaleetera okuwubwa, bwe butamanya ebyawandiikibwa, wadde obuyinza bwa Katonda. Abantu bwe balizuukira, baliba nga bamalayika mu ggulu, nga tebakyawasa era nga tebakyafumbirwa. “Ate ebifa ku kuzuukira kw'abafu, ddala mwali musomye mu kitabo kya Musa, mu kitundu ekyogera ku kisaka, Katonda bye yagamba Musa nti: ‘Nze Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo’. Katonda si wa bafu, wabula wa balamu. Muwubwa nnyo!” Awo omu ku bannyonnyozi b'amateeka n'ajja, n'awulira Abasaddukaayo nga bawakana. Bwe yalaba nga Yesu abazzeemu bulungi, naye n'amubuuza nti: “Kiragiro ki ekisinga byonna obukulu?” Yesu n'addamu nti: “Ekiragiro ekisinga byonna obukulu kiikino: ‘Ggwe Yisirayeli, wulira: Mukama ye Katonda waffe, Mukama yekka. Era yagalanga Mukama, Katonda wo, n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.’ Ekiragiro ekiddirira mu bukulu, kiikino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wennyini.’ Teri kiragiro kirala kisinga bino bukulu.” Awo omunnyonnyozi w'amateeka n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, ozzeemu bulungi. Ky'ogambye kya mazima nti: Katonda ali omu yekka, teri mulala, era nti okumwagala n'omutima gwonna, n'amagezi gonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala ffe ffennyini, kusinga ensolo zonna eziweebwayo okwokebwa nga nnamba, era n'ebirala byonna ebiweebwayo eri Katonda.” Yesu bwe yalaba ng'omunnyonnyozi w'amateeka azzeemu na magezi, n'amugamba nti: “Otandise okutegeera eby'omu Bwakabaka bwa Katonda.” Ne wataba aguma kumubuuza bibuuzo birala. Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza, n'abuuza nti: “Abannyonnyozi b'amateeka bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi? Dawudi yennyini, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, yagamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’ “Oba nga Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?” Abantu abangi abaaliwo, ebigambo bye bino ne babiwuliriza n'essanyu. Awo Yesu bwe yali ng'ayigiriza, n'agamba nti: “Mwekuume abannyonnyozi b'amateeka, abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu ezikweya, era abaagala okulamusibwa mu butale, n'okutuula mu bifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro, ne mu bifo ebyekitiibwa ku mbaga, era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.” Yesu bwe yali ng'atudde mu maaso g'ekifo omuteekebwa ebirabo mu Ssinzizo, n'alaba abantu bangi nga bateekamu ensimbi. Abagagga bangi baateekamu ensimbi nnyingi. Awo nnamwandu omwavu n'ajja, n'ateekamu bussente bubiri, obusembayo okuba obw'omuwendo omutono ennyo. Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu ono omwavu atadde kinene nnyo mu kifo omuteekebwa ebirabo, okusinga abalala bonna. Bo bataddemu nga batoola ku kingi kye balina. Naye nnamwandu ono omwavu, ataddemu kyonna ky'abadde alina, ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.” Awo Yesu bwe yali ng'ava mu Ssinzizo, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Muyigiriza, laba amayinja n'ebizimbe ebyewuunyisa!” Yesu n'amuddamu nti: “Ebizimbe bino ebinene obiraba? Mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna galisuulibwa wansi.” Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, ng'atunuulidde Essinzizo, Peetero ne Yakobo ne Yowanne ne Andereya, ne bamubuuza mu kyama nti: “Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti ebyo byonna binaatera okubaawo?” Awo Yesu n'abagamba nti: “Mwerinde waleme kubaawo ababuzaabuza. Bangi balijja nga beeyita nze, era balibuzaabuza bangi. Era bwe muwuliranga entalo wano ne wali, temutyanga. Zino ziteekwa okugwawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. “Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo okukankana kw'ensi mu bitundu bingi, era enjala erigwa. Olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi. “Naye mwekuume, kubanga balibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Balibakubira mu makuŋŋaaniro. Era muliyimirira mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, okubatuusaako obubaka bwange. Enkomerero nga tennatuuka, Amawulire Amalungi gateekwa okumala okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna. “Era bwe babakwatanga ne babawaayo mu mbuga z'amateeka, temweraliikiriranga kye munaayogera, naye mwogeranga ekyo Katonda ky'abawa okwogera mu kaseera ako. Ebigambo bye mulyogera tebiriba byammwe, wabula bya Mwoyo Mutuukirivu. “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa. Era nammwe abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa. “Bwe muliraba ekintu eky'omuzizo ekyenyinyalwa nga kiteekeddwa we kitandibadde (oyo asoma bino ategeere), olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi. Aliba waggulu ku nnyumba ye, bw'akkanga, tayingiranga mu nnyumba kuggyamu ky'anaatwala. Era aliba mu nnimiro, taddanga ka kunona kkooti ye. Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo nga balibonaabona nnyo! Mwegayirire Katonda, bino bireme kubaawo mu biseera eby'obutiti. “Mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ebintu, okutuusa kati. Era tewaliddawo kubonaabona kulala kwenkana awo. Era singa Katonda teyakendeeza ku nnaku ezo, ez'okubonaabona, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu be, ennaku ezo yazikendeezaako. “Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano,’ oba nti: ‘Ali wali,’ temukkirizanga. Abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka. Naye mwerinde, mbabuulidde byonna nga bukyali. “Mu nnaku ezo, ng'ekiseera eky'okubonaabona kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka. Emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa. “Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa. Alituma bamalayika mu njuuyi zonna ennya ez'ensi, okukuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi. “Mulabire ku muti omutiini muyige. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka. Mu ngeri ye emu, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti enkomerero eri kumpi nnyo. “Mazima mbagamba nti ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo. Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo. “Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde Mwana, wabula Kitange yekka ye amanyi. Mwerinde, mutunule, kubanga temumanyi kiseera kirindirirwa we kirituukira. “Kino kifaananako n'ekyo omuntu ky'akola ng'agenda okutambula olugendo. Bw'aba ava awaka, aleka akwasizza buli muddu we omulimu gw'anaakola, n'omuggazi n'amulagira okukuuma. Kale mutunule, kubanga temumanyi nnannyini maka w'alijjira, oba mu ttumbi, oba enkoko we zikookolimira, oba mu makya, aleme kubagwako bugwi, n'abasanga nga mwebase. Kye ŋŋamba mmwe, era kye ŋŋamba n'abalala bonna nti: Mutunule!” Mu kiseera ekyo, waali wakyabulayo ennaku bbiri, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, zituuke. Bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka baali mu kukola lukwe lwa kukwata Yesu, bamutte. Naye ne bagamba nti: “Tuleme kumukwata mu biseera bya nnaku nkulu, sikulwa ng'abantu beegugunga.” Awo Yesu bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde, alya, mu kiseera ekyo omukazi n'ajja, ng'alina eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo. N'asaanukula eccupa eyo, omuzigo n'agufuka ku mutwe gwa Yesu. Naye abamu ku baaliwo, ne basunguwala. Ne bagambagana nti: “Lwaki omuzigo ogwo gwonooneddwa bwe gutyo? Gubadde guyinza okutundibwa, ne guvaamu ensimbi ezisoba mu denaari ebikumi bisatu, ne zigabirwa abaavu.” Bwe batyo omukazi ne bamunenya. Kyokka Yesu n'agamba nti: “Omukazi mumuleke, lwaki mumutawaanya? Ekikolwa ky'ankoledde kirungi. Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, era buli lwe mwagala, muyinza okubayamba. Naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. Omukazi ono akoze ky'ayinza, omubiri gwange agusiize omuzigo ogw'akawoowo nga sinnafa, n'aguteekerateekera okuziikibwa. Era mazima mbagamba nti wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.” Awo Yuda Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu, ng'ayagala okulyamu Yesu olukwe, amuweeyo gye bali. Bakabona bwe baawulira ky'ayagala okubakolera, ne basanyuka, era ne basuubiza okumuwa ensimbi. Okuva olwo Yuda n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu. Ku lunaku olusooka olw'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, oluttirwako endiga entoototo ey'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, abayigirizwa ba Yesu ne bamubuuza nti: “Oyagala tugende tukutegekere wa gy'onooliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?” Awo Yesu n'atuma babiri ku bo, n'abagamba nti: “Mulage mu kibuga, munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi, mumugoberere. Era mugambe nnannyini nnyumba omuntu oyo mw'anaayingira, nti: ‘Omuyigiriza agambye nti ekisenge kyange kiruwa, nze n'abayigirizwa bange mwe tunaaliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?’ Ye anaabalaga ekisenge ekinene ekiri waggulu, ekiwedde okwaliirwa, mututegekere omwo.” Awo abayigirizwa ne basitula, ne balaga mu kibuga. Era ne basanga nga byonna biri nga Yesu bwe yabagamba. Ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'ajja n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri. Awo bwe baali batudde nga balya, Yesu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti omu ku mmwe alya nange kaakati, anandyamu olukwe.” Abayigirizwa be ne banakuwala, era kinnoomu, ne babuuza Yesu nti: “Omuntu oyo, ye nze?” Yesu n'abaddamu nti: “Ye omu ku mmwe ekkumi n'ababiri, akoza nange mu kibya. Ddala Omwana w'Omuntu agenda kuttibwa, ng'ebyawandiikibwa bwe bimwogerako. Naye omuntu oyo anaalyamu Omwana w'Omuntu olukwe, nga zimusanze! Kyandimubeeredde kirungi obutazaalibwa!” Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu n'abawa, n'abagamba nti: “Mutoole mulye, kino gwe mubiri gwange.” Ate n'akwata ekikopo, era bwe yamala okwebaza Katonda n'abawa bonna ne banywa, n'abagamba nti: “Kino gwe musaayi gwange ogunaayiyibwa ku lw'abangi, era ogukakasa endagaano empya ekoleddwa Katonda. Mazima mbagamba nti siryongera kunywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa lwe ndigunywa, nga muggya, mu Bwakabaka bwa Katonda.” Awo bwe baamala okuyimba oluyimba olw'okutendereza Katonda, ne bafuluma, ne balaga ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti. Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ne zisaasaana.’ Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibakulemberamu okugenda e Galilaaya.” Awo Peetero n'amugamba nti: “Abalala bonna ne bwe banadduka ne bakwabulira nze siikwabulire.” Yesu n'amuddamu nti: “Mazima nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu, mu kiro kino kyennyini.” Kyokka Peetero n'addamu n'akakasiza ddala nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abayigirizwa abalala bonna ne boogera bwe batyo. Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano, nga nze neegayirira Katonda.” N'atwalako Peetero ne Yakobo ne Yowanne, n'atandika okutya ennyo n'okweraliikirira. N'abagamba nti: “Omwoyo gwange gujjudde ennaku eyinza n'okunzita! Musigale wano, mukuume.” Bwe yeeyongerayo katono mu maaso, n'afukamira, ne yeegayirira Katonda nti: “Singa kiyinzika, essaawa ey'okubonaabona ereme kuntuukako.” Era n'agamba nti: “Kitange, oyinza byonna. Nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona. Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.” Awo n'ajja, n'asanga Peetero ne Yakobo ne Yowanne nga beebase, n'agamba Peetero nti: “Simooni, weebase? Tosobodde kutunula wadde okumala essaawa emu bw'eti? Mutunule era mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa, kubanga omwoyo mumalirivu, naye omubiri munafu.” Era n'agenda ne yeegayirira Katonda mu ngeri ye emu nga bwe yeegayiridde mu kusooka. Awo n'ajja nate n'abasanga era nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gajjudde otulo. Ne babulwa kye banaamuddamu. Bwe yajja omulundi ogwokusatu n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Mulekere awo! Essaawa etuuse! Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi. Musituke tugende. Laba, omuntu andiddemu olukwe ali kumpi okutuuka.” Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina ky'abantu abalina ebitala n'emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga. Olwo eyalyamu Yesu olukwe, yali amaze okuwa ekibiina ky'abantu akabonero ng'agamba nti: “Omuntu gwe nnaalamusa nga mmunywegera, ye wuuyo, mumukwate era mumutwale nga mumunywezezza.” Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Muyigiriza!” Era n'amunywegera. Awo ne bavumbagira Yesu, ne bamukwata ne bamunyweza. Naye omu ku baali bayimiridde awo, n'aggyayo ekitala, n'atema omuddu wa Ssaabakabona n'amukutulako okutu. Awo Yesu n'ababuuza nti: “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo, ng'abajjiridde omunyazi? Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo nga njigiriza, ne mutankwata. Naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa biryoke bituukirizibwe.” Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira, ne badduka. Waaliwo omuvubuka eyali tayambadde kirala kyonna okuggyako olugoye, lwe yali yeebikkiridde. Abantu ne bamukwata ng'agoberera Yesu. Kyokka omuvubuka oyo n'abeesumattulako, n'adduka bwereere, ne basigaza lugoye. Awo Yesu ne bamutwala ewa Ssaabakabona. Bakabona abakulu bonna n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaana, ne batuula mu lukiiko. Peetero yagoberera Yesu, ng'amwesuddeko ebbanga, n'ayingirira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, n'atuula n'abakuumi, n'ayota omuliro. Olwo bakabona abakulu n'ab'olukiiko abalala bonna ne banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, kyokka ne batabuzuula. Waaliwo bangi abaawa obujulizi obw'obulimba nga bamulumiriza, obujulizi bwabwe ne butakwatagana. Era abamu ne basituka, ne bawa obujulizi obw'obulimba nga bamulumiriza nti: “Twamuwulira ng'agamba nti: ‘Ndimenyawo Essinzizo lino eryazimbibwa abantu, ate mu nnaku ssatu, ndizimbawo eddala, nga terizimbiddwa bantu.’ ” Naye obujulizi bwa bano nabwo ne butakwatagana. Awo Ssaabakabona n'ayimirira bonna we bamulabira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina kyakuddamu? Kiki ky'ogamba ku bino bye bakulumiriza?” Kyokka Yesu n'asirika, n'ataddamu. Ssaabakabona n'ayongera okumubuuza nti: “Gwe Kristo, Omwana wa Katonda atenderezebwa?” Awo Yesu n'addamu nti: “Ye nze. Era muliraba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira mu bire eby'eggulu.” Awo Ssaabakabona n'ayuza ebyambalo bye, era n'agamba nti: “Ate tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde. Mmwe mulowooza mutya?” Awo bonna ne basalira Yesu omusango nti asaanidde okuttibwa. Abamu ne batandika okumuwandira amalusu, ne bamubikka ku maaso, era ne bamukuba ebikonde nga bagamba nti: “Tulage akukubye.” Awo abakuumi ne bamutwala nga bamukuba empi. Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bawala abaweereza ewa Ssaabakabona, n'ajja. Bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amwetegereza, n'agamba nti: “Naawe wali n'Omunazaareeti oyo, Yesu.” Kyokka Peetero ne yeegaana nti: “Ky'ogamba sikimanyi era sikitegeera.” AwoPeetero n'ava mu luggya, n'alaga mu lukuubo olufuluma ebweru. Awo enkoko n'ekookolima. Awo omuwala oli n'addamu okulaba Peetero, n'agamba abaali bayimiridde awo nti: “Omusajja ono ye omu ku bagoberezi ba Yesu.” Kyokka Peetero ne yeeyongera okwegaana. Era nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bamugamba nate nti: “Ddala oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga naawe oli Mugalilaaya.” Kyokka Peetero n'atandika okwekolimira era n'okulayira nti: “Nze simanyi muntu oyo gwe mwogerako!” Amangwago enkoko n'ekookolima omulundi ogwokubiri. Awo Peetero n'ajjukira ebyo Yesu bye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'atulika, n'akaaba amaziga. Obudde bwe bwali nga bwakakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka, era n'abakiise abalala bonna, ne bateesa. Ne basiba Yesu, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato. Pilaato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.” Awo bakabona abakulu ne bamuwawaabira emisango mingi. Pilaato n'amubuuza nti: “Tolina kyakuddamu? Laba emisango gye bakuwawaabira bwe giri emingi.” Kyokka Yesu n'atayongera kumuddamu kigambo, Pilaato ne yeewuunya. Mu biseera eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Pilaato yatanga omusibe gwe baamusabanga okuta. Ku mulundi guno, mu kkomera mwalimu omusajja ayitibwa Barabba, eyasibwa awamu ne bajeemu banne abatta abantu mu kajagalalo. Awo ekibiina ky'abantu ne kyambuka, ne kitandika okusaba Pilaato okubakolera nga bwe yali amanyidde. Pilaato n'abaddamu ng'ababuuza nti: “Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?” Ekyo yakyogera, kubanga yamanya nti bakabona abakulu baali bawaddeyo Yesu lwa kumukwatirwa buggya. Kyokka bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina ky'abantu nti Pilaato abateere Barabba mu kifo kya Yesu. Awo Pilaato n'abagamba nti: “Kale gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya nnaamukola ntya?” Bo ne bamuddamu nga baleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba!” Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Kyokka ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.” Awo Pilaato olw'okwagala okusanyusa ekibiina ky'abantu, n'abateera Barabba, ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba. Awo abaserikale ne batwala Yesu mu lubiri lwa Pilaato oluyitibwa Purayitoriyo, ne bayita bannaabwe ab'ekibinja ekyo kyonna, ne bakuŋŋaana. Ne bambaza Yesu olugoye olumyufu, ne bawetaaweta amaggwa, ne bagakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe. Awo ne batandika okumulamusa nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamukuba mu mutwe n'olumuli, ne bamufujjira amalusu, ne bafukamira nga beefuula abamussaamu ekitiibwa. Awo bwe baamala okumukudaalira, ne bamwambulamu olugoye olumyufu, ne bamwambaza engoye ezize, ne bamufulumya, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba. Awo Simooni Omukireene yali ayitawo ng'ava mu kyalo, abaserikale ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu. Simooni ono ye kitaawe wa Alekizanda ne Ruufo. Awo Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Golugoota, ekitegeeza Ekifo ky'Ekiwanga. Ne bamuwa omwenge gw'emizabbibu nga gutabuddwamu envumbo eyitibwa mirra. Kyokka n'agaana okugunywa. Awo ne bamukomerera ku musaalaba. Ne bagabana engoye ze, nga bazikubira akalulu, balabe buli omu lw'anaatwala, Baamukomerera ku musaalaba nga ziwera essaawa ssatu ez'enkya. Omusango ogumuvunaanibwa ne guwandiikibwa nti: “KABAKA W'ABAYUDAAYA.” Baakomerera n'abanyazi babiri buli omu ku musaalaba ogugwe, okumpi ne Yesu, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono. [ Ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti: “Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka.”] Abaali bayitawo ne bavuma Yesu, ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ha! Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu, weewonye! Va ku musaalaba okke!” Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, nabo ne bamukudaalira nga bagambagana nti: “Yawonyanga balala, tayinza kwewonya yennyini! Kristo, Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulabe, tulyoke tumukkirize!” N'abo abaakomererwa buli omu ku musaalaba okumpi ne Yesu, ne bamuvuma. Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna. Ku ssaawa ey'omwenda Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eloyi, Eloyi, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” Abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Wulira ayita Eliya!” Awo omu n'adduka n'annyika ekyangwe mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa, nga bw'agamba nti: “Leka tulabe oba nga Eliya anajja n'amuggya ku musaalaba!” Yesu n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa. Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale eyali ayimiridde awo ng'atunuulidde Yesu, bwe yalaba engeri gy'afuddemu, n'agamba nti: “Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda!” Era waaliwo abakazi abaali ewalako nga balengera. Abamu ku bo be bano: Mariya Magudaleena, Salome, ne Mariya nnyina Yose ne Yakobo omuto. Abakazi bano baayitanga ne Yesu nga bamuweereza, bwe yali mu Galilaaya. Era waaliwo abakazi abalala bangi abajja naye ng'ayambuka e Yerusaalemu. Obudde bwe bwali buwungeera, ate nga lwali lunaku lwa kweteekateeka, kwe kugamba, olukulembera Sabbaato, Yosefu ow'e Arimataya n'ajja. Yali mubaka mu lukiiko olukulu olw'Abayudaaya, assibwamu ekitiibwa. Era naye yali alindirira okujja kw'Obwakabaka bwa Katonda. Yosefu oyo n'aguma, n'agenda ewa Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu. Pilaato ne yeewuunya okuwulira nti Yesu yafudde dda. N'ayita omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, n'amubuuza oba nga Yesu yafudde dda. Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale bwe yamala okukakasa Pilaato nti Yesu amaze okufa, Pilaato n'akkiriza Yosefu okutwala omulambo. Awo Yosefu n'agula olugoye olweru olulungi, n'awanula omulambo gwa Yesu ku musaalaba, n'aguzinga mu lugoye olwo, n'aguteeka mu ntaana ey'empuku, era eyali esimiddwa mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja, n'aliggaza omulyango gw'entaana. Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yose, ne beetegereza omulambo gwa Yesu we guteekeddwa. Olunaku olwa Sabbaato bwe lwaggwaako, Mariya Magudaleena ne Salome ne Mariya nnyina Yakobo, ne bagula ebyobuwoowo, balyoke bagende basiige omulambo gwa Yesu. Ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali nga yaakavaayo, ne bagenda ku ntaana. Awo ne beebuuzaganya nti: “Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?” Ejjinja eryo lyali ddene nnyo. Naye bwe beetegereza, ne balaba nga liyiringisiddwa, ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana. Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omuvubuka ng'atudde ku ludda olwa ddyo, ng'ayambadde ekkanzu enjeru, ne bawuniikirira. N'abagamba nti: “Muleke kuwuniikirira. Munoonya Yesu Omunazaareeti eyakomererwa ku musaalaba. Wano taliiwo. Azuukidde. Mulabe, kino kye kifo we baabadde bamutadde. Mugende mubuulire abayigirizwa be nga ne Peetero kw'ali, nti: ‘Abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ” Awo ne bafuluma, ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga baakwatibwa ensisi n'okuwuniikirira. Era ne batabuulirako muntu n'omu, kubanga baali batidde. [ Awo abakazi abo ne bagenda eri Peetero ne banne, ne babategeeza mu bimpimpi ebyo byonna omuvubuka bye yabagamba. Ebyo bwe byaggwa, Ye yennyini Yesu n'atuma abayigirizwa be okutwala obubaka bwa Katonda obw'emirembe gyonna obw'okulokola abantu, babubunye mu nsi yonna,okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Naye bwe baawulira nti Yesu mulamu, era nti Mariya Magudaleena amulabye, ne batakkiriza. Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alabikira babiri ku bo nga balaga mu kyalo. Yali afaanana mu ngeri ndala. Awo ne baddayo, ne babuulira bannaabwe. Naye bo ne batakkiriza. Oluvannyuma, Yesu n'alabikira abayigirizwa be ekkumi n'omu, nga batudde balya. N'abanenya olw'obutakkiriza bwabwe, n'olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza bigambo by'abo abaamulaba ng'amaze okuzuukira. Era n'abagamba nti: “Mugende mu nsi zonna, mutegeeze abantu bonna Amawulire Amalungi. Buli akkiriza era n'abatizibwa, alirokolebwa, naye atakkiriza, omusango gulimusinga. “Abakkiriza balikola ebyamagero bino: mu linnya lyange baligoba emyoyo emibi ku bantu; balyogera mu nnimi ze batayiganga; singa balikwata emisota, era singa balinywa ekintu kyonna ekitta, tebalibaako kabi. Balikwata ku balwadde, abalwadde abo ne bawona.” Awo Mukama Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku ludda olwa ddyo olwa Katonda. Awo abayigirizwa be ne bagenda ne bategeeza abantu wonna wonna Amawulire Amalungi. Mukama n'ababeeranga, era n'akakasanga obubaka bwabwe ng'abakozesa ebyamagero.] Oweekitiibwa ennyo Tewofilo: Bangi bagezezzaako okuwandiika n'obwegendereza ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe. Baawandiika ebyatubuulirwa abo abaabirabirako ddala okuva ku ntandikwa yaabyo, era abaakola omulimu ogw'okubunyisa Ekigambo kya Katonda. Nange bwe neetegerezza byonna okuva ku ntandikwa yaabyo, ndabye nti kirungi okubikuwandiikira nga bwe biddiriŋŋana. Kino nkikoze, olyoke omanyire ddala amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa. Kabaka Herode bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zakariya, ow'omu kitongole kya bakabona ekya Abiya. Yalina mukazi we erinnya lye Elisaabeeti, nga muzzukulu wa Arooni. Bombi baali bantu balungi mu maaso ga Katonda, nga bakwata bulungi ebiragiro bya Mukama byonna n'amateeka ge. Baali tebalina mwana, kubanga Elisaabeeti yali mugumba, ate bombi baali bakaddiye. Lwali lumu, Zakariya yali akola omulimu gwe ogw'obwakabona, mu maaso ga Katonda, ng'ekitongole kye yalimu kye kiri mu luwalo. Yalondebwa na kalulu, ng'empisa ya bakabona bwe yali, n'ayingira mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo, okunyookeza obubaane. Mu kiseera ekyo eky'okunyookeza obubaane, abantu bonna abaali bakuŋŋaanye, baali wabweru nga basinza Katonda. Awo malayika wa Mukama n'ayimirira ku ludda olwa ddyo olw'ekyoterezo ky'obubaane, n'alabikira Zakariya. Zakariya bwe yamulaba ne yeesisiwala, entiisa n'emukwata. Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga Katonda awulidde okwegayirira kwo: mukazi wo Elisaabeeti alikuzaalira omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye Yowanne. Olisanyuka n'ojaguza, era n'abalala bangi balisanyuka olw'okuzaalibwa kwe, kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama. Talinywa mwenge gwa mizabbibu, newaakubadde ekitamiiza ekirala kyonna. Alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu nga tannaba kuva mu lubuto lwa nnyina. Alikomyawo Abayisirayeli bangi eri Mukama Katonda waabwe. Aliweebwa omwoyo n'obuyinza nga Eliya bye yalina, n'akulembera Mukama okuzza emitima gya bakitaabwe b'abaana eri abaana baabwe, n'okuzza abajeemu mu kkubo ly'abantu abalungi, alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.” Awo Zakariya n'agamba nti: “Kino nnaakikakasiza ku ki? Nze neekaddiyidde, ne mukyala wange naye akaddiye.” Malayika n'amuddamu nti: “Nze Gabulyeli, ayimirira bulijjo mu maaso ga Katonda nga mmuweereza. Ntumiddwa okwogera naawe, n'okukutegeeza amawulire gano amalungi. Kale nno nga bw'otokkirizza bye nkutegeezezza, ebirituukirira ng'ekiseera kyabyo kituuse, ojja kuziba omumwa, obe nga tokyasobola kwogera, okutuusa ku lunaku bino lwe birituukirira.” Mu kiseera ekyo, abantu baali balindirira Zakariya, era nga beewuunya ekimulwisizza mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo. Bwe yafuluma n'atasobola kwogera nabo, ne bamanya nti wabaddewo ekitali kya bulijjo ky'alabye mu Ssinzizo. Olw'obutasobola kwogera, n'abategeeza mu bubonero, n'asigala ng'azibye omumwa. Awo ennaku ze ez'okuweereza bwe zaggwaako, n'addayo ewuwe. Bwe waayitawo ekiseera, Elisaabeeti mukazi we n'aba olubuto, n'amala emyezi etaano nga teyeeraga mu bantu, ng'agamba nti: “Mukama ye annyambye okuba bwe nti, n'ankwatirwa ekisa mu kiseera kino, n'anzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.” Elisaabeeti yali yaakamala emyezi mukaaga ng'ali lubuto, Katonda n'atuma malayika Gabulyeli mu kibuga eky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazaareeti, ew'omuwala embeerera, erinnya lye Mariya, eyali ayogerezebwa omusajja ayitibwa Yosefu, muzzukulu wa Ssekabaka Dawudi. Malayika bwe yatuuka w'ali, n'agamba nti: “Nkulamusa, ggwe aweereddwa omukisa; Mukama ali naawe!” Mariya ne yeeraliikirira nnyo olw'ebigambo ebyo, era ne yeebuuza mu mutima gwe kye bitegeeza. Awo malayika n'amugamba nti: “Mariya, totya, kubanga Katonda akuwadde omukisa: ojja kuba olubuto, ozaale omwana wa bulenzi, omutuume erinnya lye Yesu. Aliba wa buyinza, era aliyitibwa Mwana wa Katonda Atenkanika. Mukama Katonda alimuwa obwakabaka bwa Dawudi jjajjaawe. Alifuga bazzukulu ba Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.” Mariya n'abuuza malayika nti: “Eky'okuba olubuto kinaatuukirira kitya, nga simanyi musajja?” Malayika n'amuddamu nti: “Mwoyo Mutuukirivu anajja ku ggwe, era amaanyi ga Katonda Atenkanika ganaaba naawe, n'olwekyo omwana alizaalibwa aliyitibwa Mutuukirivu, Mwana wa Katonda. Muganda wo Elisaabeeti, newaakubadde yayitibwanga mugumba, era nga mukadde, guno omwezi gwa mukaaga ng'ali lubuto. Era naye ajja kuzaala omwana wa bulenzi, kubanga tewali Katonda ky'ayogera kitayinzika.” Awo Mariya n'agamba nti: “Nzuuno omuzaana wa Mukama; nzikirizza, kibe nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava w'ali, n'agenda. Mu nnaku ezo, Mariya n'asituka, n'alaga mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga ky'omu Buyudaaya, n'ayingira mu nnyumba ya Zakariya, n'alamusa Elisaabeeti. Awo olwatuuka, Elisaabeeti bwe yawulira Mariya ng'amulamusa, omwana n'azannya mu lubuto lwa Elisaabeeti. Era Elisaabeeti n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, n'akangula nnyo ku ddoboozi, n'agamba nti: “Waweebwa omukisa okusinga abakazi abalala bonna, n'omwana gw'olizaala yaweebwa omukisa. Kale mpeereddwa ntya ekitiibwa kino, nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira? Bwe mpulidde eddoboozi lyo ng'onnamusa, omwana n'asamba olw'essanyu, mu lubuto lwange. Oli wa mukisa ggwe eyakkiriza nti ebyo Mukama bye yakutegeeza birituukirira.” Awo Mariya n'agamba nti: “Omutima gwange gugulumiza Mukama. Omwoyo gwange gusanyukira Katonda Omulokozi wange, kubanga akwatiddwa ekisa omuzaana we ataliiko bw'ali. Okuva kati, abantu ab'emirembe gyonna banampitanga wa mukisa, olw'ebikulu Nnannyinibuyinza by'ankoledde. Erinnya lye ttukuvu! Era mu buli mulembe, akwatirwa ekisa abamutya. Alaze obuyinza bwe mu byamagero by'akola. Abeekulumbaza mu birowoozo byabwe, abasaasaanyizza. Awanudde ab'obuyinza ku ntebe zaabwe, n'agulumiza abeetoowaze. Abali mu bwetaavu abawadde ebirungi, abagagga n'abagoba nga tebalina kantu. Ayambye Yisirayeli omuweereza we, nga bwe yasuubiza bajjajjaffe. Ajjukidde okukwatirwa ekisa Aburahamu n'ezzadde lye emirembe gyonna.” Mariya yamala n'Elisaabeeti emyezi ng'esatu, n'adda eka. Awo ennaku za Elisaabeeti ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala omwana wa bulenzi. Baliraanwa be ne baganda be ne bawulira nga Mukama bw'amukwatiddwa ekisa ekingi, ne basanyukira wamu naye. Awo ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana. Baali bagenda kumutuuma erinnya lya kitaawe, Zakariya. Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Nedda, anaatuumibwa Yowanne.” Ne bamugamba nti: “Mu b'olulyo lwo teri n'omu ayitibwa linnya eryo!” Awo ne beeyambisa obubonero, ne babuuza kitaawe w'omwana erinnya ly'ayagala batuume omwana. Zakariya n'asaba ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika nti: “Erinnya ly'omwana ye Yowanne.” Bonna ne beewuunya. Amangwago omumwa gwa Zakariya ne guzibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera ng'atendereza Katonda. Awo abantu bonna ababaliraanye ne batya. Era ebigambo bino byonna ne bibuna mu kitundu kyonna ekya Buyudaaya eky'ensozi, Bonna abaabiwulira, ne bibayingira mu mitima, ne bagamba nti: “Kale omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?” Kubanga obuyinza bwa Mukama bwali naye nga bumuyamba. Awo Zakariya kitaawe wa Yowanne, n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, n'alanga, ng'agamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe, kubanga akyalidde abantu be era abanunudde. Atuwadde Omulokozi ow'obuyinza, asibuka mu lulyo lwa Dawudi omuweereza we, nga bwe yasuubiriza edda mu balanzi be abatukuvu, okutuwonya abalabe baffe, n'okutuggya mu mikono gya bonna abatukyawa. Yasuubiza okukwatirwa bajjajjaffe ekisa, n'okujjukira endagaano ye entukuvu. Yalayira n'akakasa Aburahamu jjajjaffe, nti tuliggyibwa mu mikono gy'abalabe baffe, tulyoke tumuweereze awatali kutya, nga tuli beesimbu era batukuvu mu maaso ge, obulamu bwaffe bwonna. Naawe omwana, oliyitibwa mulanzi wa Katonda Atenkanika, kubanga olikulembera Mukama, okulongoosa amakubo ge, n'okumanyisa abantu be nti alibalokola, ng'abasonyiwa ebibi byabwe, kubanga Katonda waffe ajjudde ekisa. Oyo alinga enjuba evaayo, alitukyalira ng'ava mu ggulu, okwakira abo abali mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'olumbe, n'okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.” Omwana n'agenda ng'akula, era nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abanga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yeeraga abantu ba Yisirayeli. Awo olwatuuka, mu nnaku ezo, Kayisaari Agusto n'afulumya ekirangiriro nti abantu bonna ab'omu matwale ge beewandiise, babalibwe. Okwewandiisa kuno okubereberye, kwabaawo nga Kiriniyo ye afuga ekitundu eky'e Siriya. Awo buli omu n'agenda okwewandiisa gy'asibuka. Ne Yosefu n'ava mu kibuga Nazaareeti, eky'omu Galilaaya, n'agenda mu Buyudaaya, mu kibuga Dawudi kye yazaalibwamu, ekiyitibwa Betilehemu, kubanga Yosefu yali muzzukulu wa Dawudi. Yagenda okwewandiisa awamu ne Mariya gwe yali ayogereza. Mariya yali lubuto, era bwe baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka. N'azaala omwana we omuggulanda, wa bulenzi, n'amubikka mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu ebisolo mwe biriira, kubanga mu nnyumba y'abagenyi tebaafunamu kifo. Mu kitundu ky'ensi ekyo, mwalimu abasumba abaasulanga ku ttale, nga bakuuma amagana gaabwe ekiro, mu mpalo. Awo malayika wa Mukama n'abalabikira, n'ekitiibwa kya Mukama ne kyakaayakana okubeetooloola. Ne batya nnyo! Naye malayika n'abagamba nti: “Temutya, kubanga mbaleetera amawulire amalungi, ag'essanyu eringi eri abantu bonna. Olwaleero, mu kibuga kya Dawudi, Omulokozi abazaaliddwa. Ye Kristo, Mukama. Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: mujja kusanga omwana omuwere abikkiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.” Amangwago awaali malayika oyo, ne wajjawo ne bamalayika abalala bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu. Ne batendereza Katonda nga bayimba nti: “Ekitiibwa kibe eri Katonda mu ggulu! Ne ku nsi, emirembe gibe mu bantu Katonda b'asiima!” Bamalayika bwe baamala okwawukana ku basumba, ne baddayo mu ggulu. Awo abasumba ne bagambagana nti: “Tugende e Betilehemu, tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.” Ne bagendayo mangu, ne basanga Mariya ne Yosefu, n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira. Bwe baamala okulaba omwana, ne bategeeza bonna ebyo ebyali bibabuuliddwa ku mwana oyo. Bonna abaabiwulira ne beewuunya abasumba bye baayogera. Naye Mariya ebigambo ebyo byonna n'abikuuma mu mutima gwe, era n'abirowoozangako nnyo. Awo abasumba ne baddayo nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw'ebyo bye bawulidde, ne bye balabye. Byonna byali ddala nga malayika bwe yali abibabuulidde. Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka omwana okukomolebwa, n'atuumibwa erinnya Yesu, malayika lye yayita omwana ono nga tannaba mu lubuto. Awo Yosefu ne Mariya bwe baatuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwabwe, eziragirwa mu Mateeka ga Musa, ne batwala omwana Yesu e Yerusaalemu okumwanjula eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama nti: “Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, anaawongerwanga Mukama.” Era baagenda okuwaayo eky'okutambira, ng'etteeka lya Mukama bwe liragira: enjiibwa bbiri oba amayiba amato abiri. Mu Yerusaalemu mwalimu omuntu erinnya lye Simyoni. Yali muntu mulungi, ng'assaamu Katonda ekitiibwa, era ng'alindirira okununulwa kwa Yisirayeli. Era yali ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu. Mwoyo Mutuukirivu yali amumanyisizza nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama. Awo Simyoni n'ajja mu Ssinzizo, nga Mwoyo Mutuukirivu ye amugambye. Abazadde bwe baatuusa omwana Yesu mu Ssinzizo okutuukiriza etteeka, Simyoni n'asitula omwana mu mikono gye, n'atendereza Katonda ng'agamba nti: “Kaakano Mukama wange, kye wasuubiza okituukirizza. Leka omuddu wo ŋŋende mirembe, kubanga amaaso gange galabye Omulokozi wo gwe wategekera abantu bonna, abe ekitangaala ekimulisa amawanga, era abe ekitiibwa ky'abantu bo, Abayisirayeli.” Kitaawe ne nnyina w'omwana ne bawuniikirira olw'ebigambo ebimufaako, Simyoni bye yayogera. Awo Simyoni n'abaagaliza emikisa, ate n'agamba Mariya, nnyina w'omwana nti: “Omwana ono ateekeddwawo, bangi mu Yisirayeli bagwe, ate bangi bayimuke. Era ajja kuba akabonero ke bajja okuwakanya, bwe batyo balage ebirowoozo by'emitima gyabwe. Era naawe ennaku eri ng'ekitala ekyogi, erikufumita omutima.” Era waaliwo omulanzi, omukazi erinnya lye Anna, muwala wa Fanuweli, ow'omu Kika kya Aseeri. Yali mukazi mukadde. Yafumbirwa nga muwala muto, n'amala emyaka musanvu mu bufumbo. Okuva olwo yali yaakamala emyaka kinaana mu ena nga nnamwandu. Teyavanga mu Ssinzizo. Emisana n'ekiro yabeeranga mu kuweereza Katonda na mu kumwegayirira, era ng'asiiba. Awo n'atuuka mu kiseera ekyo kyennyini, n'atendereza Katonda. Era abo bonna abaali balindirira okununulwa kwa Yerusaalemu, n'ababuulira ebifa ku mwana ono. Bwe baamala okutuukiriza byonna ebiragirwa mu tteeka lya Mukama, ne baddayo e Galilaaya mu kibuga ky'ewaabwe, e Nazaareeti. Awo omwana ne yeeyongera okukula, n'aba wa maanyi, ng'ajjudde amagezi n'emikisa gya Katonda. Abazadde ba Yesu baagendanga buli mwaka e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Yesu bwe yaweza emyaka ekkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemu nga bwe baakolanga mu kiseera eky'Embaga. Bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana Yesu n'asigala mu Yerusaalemu, bazadde be nga tebategedde. Bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza nti ali mu kibiina ky'abantu be baali batambula nabo, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe. Bwe bataamuzuula, ne baddayo e Yerusaalemu nga bamunoonya. Waayitawo ennaku ssatu, ne bamuzuula mu Ssinzizo, ng'atudde n'abayigiriza, ng'abawuliriza era ng'ababuuza ebibuuzo. Bonna abaamuwuliriza, beewuunya olw'amagezi ge n'okuddamu kwe. Bazadde be bwe baamulaba, ne bawuniikirira. Nnyina n'amugamba nti: “Mwana wange, lwaki otukoze bw'oti? Kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tweraliikirira.” Ye n'abagamba nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Temumanyi nti nteekwa okukola ku bya Kitange?” Naye bo ne batategeera ky'abagambye. Awo n'aserengeta nabo e Nazaareeti, era n'abawuliranga. Nnyina n'akuumanga bino byonna mu mutima gwe. Awo Yesu ne yeeyongera okukula, era ne yeeyongera mu magezi n'okusiimibwa Katonda n'abantu. Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obufuzi bwa Kayisaari Tiberiyo, nga Pontiyo Pilaato ye afuga Buyudaaya, nga Herode ye afuga Galilaaya, nga muganda we Filipo ye afuga ekitundu eky'e Yituraya ne Trakoniti; nga Lisaniya ye afuga Abileene, nga Anna ne Kayaafa be bassaabakabona, Yowanne mutabani wa Zakariya yali mu ddungu, n'afuna ekigambo kya Katonda. Olwo n'atambula okubuna ekitundu kyonna ekiriraanye Omugga Yorudaani, ng'agamba abantu nti: “Mwenenye, mubatizibwe, Katonda abasonyiwe ebibi byammwe.” Bino byabaawo nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'ebigambo bya Yisaaya omulanzi nti: “Waliwo eddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge. Buli kiwonvu kijjuzibwe; buli lusozi na buli kasozi biseeteezebwe. Amakubo amakyamu gagololwe, n'agalimu ebisirikko gatereezebwe. Olwo abantu bonna bajja kulaba nga Katonda bw'abalokola.’ ” Abantu bangi nnyo baagendanga eri Yowanne ababatize, ye n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? Mukole nno ebikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe. Mulekere awo okweyinula nti tulina kitaffe Aburahamu, kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abazzukulu, ng'abaggya mu mayinja gano. Mufaanaanyirizibwa n'emiti. Kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro.” Awo abantu ne bamubuuza nti: “Kale tukole ki?” N'abaddamu nti: “Alina engoye ebbiri aweeko atalina, era alina emmere naye akole bw'atyo.” Abasolooza b'omusolo nabo ne bajja okubatizibwa, ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza, ffe tukole ki?” N'abaddamu nti: “Temusoloozanga kinene okusinga ekibalagirwa.” Abaserikale nabo ne bamubuuza nti: “Ate ffe tukole ki?” N'abagamba nti: “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawaayirizanga misango gye batazzizza. Mukomenga ku kufuna misaala gyammwe gyokka.” Awo abantu bonna ne batandika okulowooza mu mitima gyabwe nti Yowanne, oba oli awo ye Kristo. Yowanne n'ategeeza bonna nti: “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ansinga obuyinza ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze. Ye, alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro. Akutte mu ngalo ekibbo ekiwewa, ayawule empeke n'ebisusunku, empeke azikuŋŋaanyize mu tterekero lye, ate byo ebisusunku abyokye omuliro ogutazikira.” Bw'atyo Yowanne, yayigirizanga abantu mu ngeri nnyingi, ng'abategeeza Amawulire Amalungi. Era yanenya omufuzi Herode, olwa Herodiya muka muganda we, n'olw'ebibi ebirala byonna Herode bye yakola. Ate ku ebyo byonna, Herode n'ayongerako n'eky'okuggalira Yowanne mu kkomera. Awo olwatuuka, abantu abalala bonna bwe baali nga bamaze okubatizibwa, Yesu naye ng'abatiziddwa, era bwe yali ng'asinza Katonda, eggulu ne libikkuka, era Mwoyo Mutuukirivu, ng'afaananira ddala ejjiba, n'akka ku ye. Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.” 9:35 Yesu yatandika omulimu gwe ogw'okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'amakumi asatu, abantu nga bamuyita mutabani wa Yosefu. Yosefu ono yali mutabani wa Eli, Eli mutabani wa Mattati, Mattati mutabani wa Leevi, Leevi mutabani wa Meleki, Meleki mutabani wa Yannayi, Yannayi mutabani wa Yosefu, Yosefu mutabani wa Mattatiya, Mattatiya mutabani wa Amosi, Amosi mutabani wa Nawumu, Nawumu mutabani wa Esili, Esili mutabani wa Nangayi. Nangayi yali mutabani wa Maati, Maati mutabani wa Mattatiya, Mattatiya mutabani wa Semeeyi, Semeeyi mutabani wa Yoseki, Yoseki mutabani wa Yoda, Yoda mutabani wa Yowanani, Yowanani mutabani wa Resa, Resa mutabani wa Zerubabbeeli, Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, Seyalutiyeli mutabani wa Neri, Neri mutabani wa Meleki, Meleki mutabani wa Addi, Addi mutabani wa Kosamu, Kosamu mutabani wa Elimadamu, Elimadamu mutabani wa Eri. Eri yali mutabani wa Yeswa, Yeswa mutabani wa Eliyezeeri, Eliyezeeri mutabani wa Yorimu, Yorimu mutabani wa Mattati, Mattati mutabani wa Leevi, Leevi mutabani wa Simyoni, Simyoni mutabani wa Yuda, Yuda mutabani wa Yosefu, Yosefu mutabani wa Yonamu, Yonamu mutabani wa Eliyakimu, Eliyakimu mutabani wa Meleya, Meleya mutabani wa Menna, Menna mutabani wa Mattata, Mattata mutabani wa Natani, Natani mutabani wa Dawudi, Dawudi mutabani wa Yesse, Yesse mutabani wa Yobedi, Yobedi mutabani wa Bowaazi, Bowaazi mutabani wa Salumooni, Salumooni mutabani wa Nasoni. Nasoni yali mutabani wa Amminadabu, Amminadabu mutabani wa Adimiini, Adimiini mutabani wa Aruni, Aruni mutabani wa Hezirooni, Hezirooni mutabani wa Pereezi, Pereezi mutabani wa Yuda, Yuda mutabani wa Yakobo, Yakobo mutabani wa Yisaaka, Yisaaka mutabani wa Aburahamu, Aburahamu mutabani wa Teera, Teera mutabani wa Nahori, Nahori mutabani wa Serugi, Serugi mutabani wa Rewu, Rewu mutabani wa Pelegi, Pelegi mutabani wa Eberi, Eberi mutabani wa Seela. Seela yali mutabani wa Kayinaani, Kayinaani mutabani wa Arupakusaadi, Arupakusaadi mutabani wa Seemu, Seemu mutabani wa Noowa, Noowa mutabani wa Lameka. Lameka mutabani wa Metuseela, Metuseela mutabani wa Enoka, Enoka mutabani wa Yaredi, Yaredi, mutabani wa Malaleeli, Malaleeli mutabani wa Kayinaani, Kayinaani mutabani wa Enosi, Enosi mutabani wa Seeti, Seeti mutabani wa Adamu, Adamu mutabani wa Katonda. Awo Yesu ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'avaayo ku Mugga Yorudaani, Mwoyo Mutuukirivu n'amutwala mu ddungu, n'amalayo ennaku amakumi ana ng'akemebwa Sitaani. Mu nnaku ezo teyalyanga n'akatono. Awo bwe zaggwaako, enjala n'emuluma. Sitaani n'amugamba nti: “Oba nga ddala oli Mwana wa Katonda, lagira ejjinja lino lifuuke emmere.” Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taba mulamu na mmere yokka.’ ” Awo Sitaani n'alinnyisa Yesu waggulu, era mu kaseera buseera n'amulaga obwakabaka bwonna obw'oku nsi. N'amugamba nti: “Nja kukuwa obuyinza okufuga amawanga gano gonna era nkuwe n'ebirungi byonna ebigalimu. Byonna byampeebwa, era gwe njagala gwe mbigabira. Kale nno ggwe singa ofukamira mu maaso gange n'onsinza, byonna bijja kuba bibyo.” Yesu n'amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ” Awo Sitaani n'atwala Yesu e Yerusaalemu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Essinzizo, n'amugamba nti: “Oba nga ddala oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi eri, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Katonda aliragira bamalayika be bakulabirire;’ era nti: ‘Balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja.’ ” Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” Sitaani ng'amaze okukema Yesu mu buli ngeri, n'amuleka okumala ekiseera. Awo Yesu n'addayo mu Galilaaya ng'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu gali naye. Ettutumu lye ne libuna mu kitundu ekyo kyonna. N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, bonna ne bamutendereza. Awo Yesu n'ajja e Nazaareeti gye yakulira. Ku lunaku lwa Sabbaato, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, nga bwe yali amanyidde okukola. N'asituka okusoma ebyawandiikibwa. Ne bamukwasa ekitabo kya Yisaaya omulanzi. Bwe yakibikkula, n'atuuka awawandiikiddwa nti: “Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, kubanga yanjawula okutegeeza abaavu Amawulire Amalungi. Yantuma okutegeeza abasibe nti bajja kuteebwa, ne bamuzibe nti bajja kulaba. Era yantuma okuwonya abanyigirizibwa, n'okulangirira ekiseera kya Mukama eky'okukwatirwamu abantu ekisa.” Awo Yesu bwe yabikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza, era n'atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. Awo n'atandika okubagamba nti: “Olwaleero kino ekyawandiikibwa kye muwulidde, kituukiridde.” Bonna ne bamusemba, era ne beewuunya olw'ebigambo ebirungi bye yayogera, ne bagamba nti: “Ono si ye mutabani wa Yosefu?” Yesu n'abagamba nti: “Ddala mujja kundeetera olugero olugamba nti: ‘Omusawo, weewonye.’ Era mujja kuŋŋamba nti: ‘Bye wakolera e Kafarunawumu, bye twawulira, bikolere na wano mu kibuga ky'ewammwe.’ ” Era n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti tewali mulanzi ayanirizibwa mu kitundu ky'ewaabwe. Naye ge mbagamba ge mazima nti mu mirembe gya Eliya waaliwo bannamwandu bangi mu Yisirayeli. Mu biseera ebyo, eggulu lyesiba, enkuba n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga, enjala n'egwa nnyingi mu nsi yonna. Kyokka Eliya teyatumibwa wadde ew'omu ku bo, wabula yatumibwa wa nnamwandu e Sareputa mu nsi y'e Sidoni. Era mu mirembe gya Elisa omulanzi waaliwo abagenge bangi mu Yisirayeli, kyokka tewaali n'omu ku bo yawonyezebwa, wabula Naamani yekka Omusiriya.” Abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebyo, ne bajjula obusungu, ne basituka, ne bamuggya mu kibuga nga bamusindiikiriza, ne bamutwala ku kagulungujjo k'olusozi olwazimbibwako ekibuga kyabwe, balyoke bamukasuke wansi. Kyokka Yesu n'abayitamu wakati, n'agenda. Awo Yesu n'agenda e Kafarunawumu, ekibuga eky'omu Galilaaya. Ku lunaku lwa Sabbaato n'abayigiriza. Ne beewuunya nnyo engeri gye yayigirizaamu: yayigiriza nga nnannyinibuyinza. Mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko omwoyo omubi, n'aleekaana nnyo nti: “Otulanga ki ggwe Yesu Omunazaareeti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi. Ggwe Mutuukirivu wa Katonda.” Yesu n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Sirika mangu, n'omuntu ono muveeko.” Omwoyo omubi bwe gwamala okusuula omuntu oyo wakati waabwe, ne gumuvaako nga tegulina kabi konna ke gumukoze. Bonna ne batya, ne beebuuzaganya nti: “Ekigambo kye kya ngeri ki? Olaba emyoyo emibi agiragiza maanyi na buyinza ne giva ku bantu!” Ettutumu lye ne libuna wonna wonna mu kitundu ekyo. Awo Yesu n'ava mu kkuŋŋaaniro, n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Nnyina muka Simooni yali alwadde omusujja mungi. Ne beegayirira Yesu amuwonye. Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'alagira omusujja ne guwona. Amangwago abadde omulwadde n'ayimuka, n'atandika okubaweereza. Enjuba ng'egudde, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta awali Yesu, n'akwata ku buli mulwadde n'amuwonya. Emyoyo emibi nagyo ne giva ku bantu bangi, nga gireekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!” Yesu n'agiboggolera, n'atagikkiriza kwogera, kubanga gyali gimumanyi nti ye Kristo. Obudde bwe bwakya, Yesu n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu. Abantu bangi ne bamunoonya okutuusa lwe baamulaba, era ne bagezaako okumuziyiza aleme okubavaako. Kyokka ye n'abagamba nti: “Ebibuga ebirala nabyo nteekwa okubitegeeza Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda, kubanga natumibwa lwa nsonga eyo.” Awo n'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'omu Buyudaaya. Lwali lumu, Yesu bwe yali ayimiridde ku lubalama lw'ennyanja Gennesareeti, abantu bangi ne bajja nga basindikagana, batuuke w'ali okuwulira ekigambo kya Katonda. Yesu n'alaba amaato abiri nga gali awo ku lubalama, ng'abavubi bagavuddemu era nga booza obutimba bwabwe. Awo n'asaabala mu limu ku maato ago, eryali erya Simooni, n'asaba Simooni alisembezeeyo katono okuva ku lukalu, n'ayigiriza abantu ng'atudde mu lyo. Bwe yamaliriza okwogera, n'agamba Simooni nti: “Eryato lyongereyo ebuziba, mutege obutimba bwammwe, mukwase ebyennyanja.” Simooni n'amugamba nti: “Mukama wange, ekiro kyonna twateganye ne tutakwasa kantu. Naye olw'okubanga olagidde, obutimba ka mbutege.” Awo bwe baabutega, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo, era obutimba bwabwe ne buba kumpi okukutuka. Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato eddala, bajje babayambe. Ne bajja, ne bajjuza amaato gombi ebyennyanja, ne gaba kumpi okusaanawo. Simooni Peetero bwe yalaba kino, n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, n'agamba nti: “Ndeka Mukama wange, kubanga nze ndi muntu mwonoonyi!” Peetero yayogera bw'atyo kubanga ye ne bonna be yali nabo, baali bakwatiddwa entiisa olw'obungi bw'ebyennyanja bye baakwasa. Mu ngeri ye emu Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo, era banne ba Simooni, ne bakwatibwa entiisa. Awo Yesu n'agamba Simooni nti: “Totya, okuva kati, ojja kuba muvubi wa bantu.” Bwe baakomyawo amaato gaabwe ku lukalu, ne baleka byonna, ne bagenda ne Yesu. Lwali lumu, Yesu bwe yali mu kibuga ekimu, ne wajjawo omusajja ajjudde ebigenge. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.” Yesu n'agolola omukono n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, wona.” Amangwago ebigenge ne bimuwonako. Yesu n'amugaana okubuulirako omuntu n'omu, wabula n'amulagira nti: “Genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.” Kyokka ettutumu lya Yesu ne lyeyongera bweyongezi okubuna, era abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaananga okumuwuliriza, era n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Wabula emirundi egimu Yesu yavangawo, n'alaga mu bifo ebitaalimu bantu, n'asinza Katonda. Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali ng'ayigiriza, waaliwo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka nga batudde awo. Baali bavudde mu byalo byonna eby'e Galilaaya n'eby'e Buyudaaya era ne mu kibuga Yerusaalemu. Amaanyi ga Katonda gaali ne Yesu, ne gamusobozesa okuwonya abalwadde. Awo ne wajjawo abasajja abaaleeta omuntu akonvubye. Baamuleetera ku katanda, ne bagezaako okumuyingiza n'okumuteeka awali Yesu. Olw'obungi bw'abantu, ne balemwa okuzuula we bamuyisa okumuyingiza. Ne balinnya waggulu ku kasolya k'ennyumba, ne bakasereekululako ekitundu, ne bamuyisa mu mwagaanya ogwo ng'ali ku katanda, ne bamussa mu bantu wakati awali Yesu. Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba nti: “Mwana wange, ebibi byo mbikusonyiye.” Awo abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ye ani? Yeeyita Katonda? Ggwe kale ani alina obuyinza okusonyiwa ebibi, okuggyako Katonda yekka?” Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Mwebuuza ki mu mitima gyammwe? Ekisingako obwangu kye kiruwa: okugamba nti ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira, otambule?’ Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira, weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.” Amangwago omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda kw'abadde agalamidde, n'addayo ewuwe ng'agulumiza Katonda. Bonna ne beewuunya, ne bagulumiza Katonda, era entiisa n'ebakwata, ne bagamba nti: “Olwaleero tulabye ebyewuunyisa!” Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'ava mu kifo ekyo, n'alaba omusolooza w'omusolo ayitibwa Leevi, ng'atudde we basolooleza omusolo. Yesu n'amugamba nti: “Jjangu, oyitenga nange.” Leevi n'asituka, n'aleka awo byonna, n'amugoberera. Era mu maka ge, n'afumbira Yesu embaga nnene. Abasolooza b'omusolo bangi nnyo era n'abantu abalala ne batuula ne balya wamu nabo. Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki muliira era ne munywera wamu n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?” Yesu n'abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Abalungi si be najja okuyita beenenye, wabula aboonoonyi.” Awo abantu abamu ne bagamba Yesu nti: “Abayigirizwa ba Yowanne basiiba emirundi mingi era ne beegayirira Katonda, n'abayigirizwa b'Abafarisaayo nabo bwe bakola, naye ababo balya era banywa.” Yesu n'abagamba nti: “Abayite ku mbaga y'obugole temuyinza kubagaana kulya, ng'awasizza omugole akyali nabo. Naye ekiseera kijja kutuuka, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo nno balitandika okusiiba.” Era n'abagerera olugero nti: “Omuntu tayuza kiwero mu lugoye luggya n'akitunga mu lugoye lukadde. Singa akola kino, olugoye oluggya alussaamu ekituli, ate olugoye olukadde ne lutasaaniramu kiwero kiggya. Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Wabula omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya. N'ekirala, omuntu amanyidde okunywa omwenge ogw'emizabbibu omukulu, tayagala musu, kubanga agamba nti: ‘Omukulu gwe gusinga okuwooma.’ ” Awo olwatuuka, ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu bwe yali ng'ayita mu nnimiro z'eŋŋaano, abayigirizwa be ne banoga ku birimba, ne babikunya mu bibatu byabwe, ne balya. Abafarisaayo abamu ne bagamba nti: “Lwaki mukola ekitakkirizibwa okukolebwa ku Sabbaato?” Awo Yesu n'abaddamu nti: “Temusomangako Dawudi kye yakola, ye ne be yali nabo bwe baalumwa enjala? Yayingira mu Nnyumba ya Katonda, n'atoola n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda, era n'awaako n'abaali naye, sso nga kyali tekikkirizibwa emigaati egyo okuliibwako abantu abalala, wabula bakabona bokka.” Awo Yesu n'agamba Abafarisaayo nti: “Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.” Ku Sabbaato endala, Yesu n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayigiriza. Mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu ow'omukono ogwa ddyo ogukaze. Abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne beekaliriza Yesu amaaso, balabe oba ng'era anaawonya ku Sabbaato, balyoke bafune ensonga kwe banaasinziira okumuwawaabira. Yesu yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba omuntu ow'omukono ogukaze nti: “Situka oyimirire bonna we bayinza okukulabira.” N'asituka n'ayimirira awo. Yesu n'abagamba nti: “Mbabuuza mmwe: kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?” Awo bonna n'abeebunguluza amaaso, n'agamba omuntu oyo nti: “Omukono gwo gugolole.” N'agugolola, ne guwonera ddala. Naye abalabe ba Yesu ne bajjula obusungu, ne beebuuzaganya kye banaakola Yesu. Awo mu nnaku ezo, Yesu n'alaga ku lusozi okusinza Katonda, n'amala ekiro kyonna ng'asinza. Obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be. Mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'abafuula abatume, be bano: Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya muganda wa Simooni oyo, ne Yakobo, ne Yowanne, ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufaayo, ne Simooni ayitibwa Omulwanirizi w'eddembe ly'eggwanga lye, ne Yuda muganda wa Yakobo, ne Yuda Yisikaryoti, eyamulyamu olukwe. Awo Yesu n'aserengeta nabo, n'ayimirira mu kifo eky'omuseetwe, awaali wakuŋŋaanidde abayigirizwa be abangi n'abantu abalala bangi nnyo, abaava mu Buyudaaya bwonna ne mu kibuga Yerusaalemu, era ne mu kitundu eky'olubalama lw'ennyanja, ekirimu ebibuga Tiiro ne Sidoni. Abantu bano bonna bajja okumuwuliriza era n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Era abo abaali bateganyizibwa emyoyo emibi, ne bawonyezebwa. Abantu bonna baagezangako okumukwatako, kubanga obuyinza bwavanga mu ye ne buwonya bonna. Awo Yesu n'atunuulira abayigirizwa be, n'agamba nti: “Muli ba mukisa abaavu, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bwammwe. “Muli ba mukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. “Muli ba mukisa abakaaba kaakano, kubanga mulisanyuka. “Muli ba mukisa abantu bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga era bwe banaabayitanga ababi, nga babalanga Omwana w'Omuntu. Musanyuke nga babayisizza bwe batyo, era mubuuke olw'essanyu, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Bwe batyo ne bajjajjaabwe bwe baayisa abalanzi. “Naye mmwe abagagga, muli ba kubonaabona, kubanga essanyu lyammwe mumaze okulifuna. “Mmwe kaakano abakkuse, muli ba kubonaabona, kubanga mulirumwa enjala. Mwe kaakano abaseka, muli ba kubonaabona kubanga mulinakuwala era mulikaaba. “Muli ba kubonaabona mmwe, abantu bwe banaabatendanga, kubanga ne bajjajjaabwe bwe batyo bwe baatendanga abalanzi ab'obulimba. “Naye abampuliriza mbagamba nti: mwagalenga abalabe bammwe, mukolerenga bulungi ababakyawa. Musabirenga omukisa abo ababakolimira. Ababavuma mubasabirenga eri Katonda. Omuntu bw'akukubanga ku ttama, omukyusizanga n'eddala. Era omuntu bw'akuggyangako ekkooti yo, omulekeranga n'ekkanzu. Buli abangako ky'akusaba omuwanga, n'oyo akuggyangako ebibyo, tomusabanga kubikuddiza. Mukolerenga abalala ebyo nammwe bye mwagala babakolere. “Singa mwagala abo bokka ababaagala mmwe, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo baagala abo ababaagala! Era singa mukolera bulungi abo bokka ababakolera mmwe ebirungi, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo kye bakola! Era singa muwola abo bokka be musuubira okubasasula, muba mukoze ki ekibasiimisa? Aboonoonyi nabo bawola boonoonyi bannaabwe, nga ba kusasulwa kyonna kye bawoze. Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe, era mubakolerenga ebirungi. Muwolenga nga temusuubira kusasulwa. Olwo empeera yammwe eriba nnene, era muliba baana ba Katonda Atenkanika, kubanga ye wa kisa eri abatasiima n'ababi. Mube ba kisa nga Kitammwe bw'ali ow'ekisa. “Temusalanga musango, nammwe tegulibasalirwa. Temusaliranga balala musango kubasinga, nammwe tegulibasalirwa kubasinga. Musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa. Mugabenga, nammwe muligabirwa. Bye mulifuna biribapimirwa mu kipimo ekituufu ekikkatiddwa, ne kisuukundibwa, ne kijjulira ddala ne kibooga. Ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, era kye kirikozesebwa okupimira mmwe.” Awo Yesu n'abagerera olugero, nti: “Muzibe takulembera muzibe munne. Singa amukulembera, bombi bagwa mu bunnya. Ayigirizibwa tasinga amuyigiriza, wabula buli ayigirizibwa bw'amala okuyigirizibwa obulungi, aba ng'oyo amuyigirizza. “Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, kyokka n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo? Oyinza otya okugamba muganda wo nti: ‘Muganda wange, leka nzigye akasubi ku liiso lyo’, sso nga ggwe wennyini tofa ku kisiki ekiri ku liryo? Mukuusa ggwe, sooka oggye ekisiki ku liiso eriryo, olwo olyoke osobole okulaba obulungi, n'okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo. “Omuti omulungi tegubala bibala bibi, n'omuti omubi tegubala bibala birungi. Buli muti gumanyirwa ku bibala byagwo. Ebibala by'omutiini tebabinoga ku busaana, n'ebibala by'emizabbibu tebabinoga ku kawule. “Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi, n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe, okukola ebibi. Ebijjula mu mutima gw'omuntu, akamwa ke bye koogera. “Lwaki mumpita nti: ‘Mukama waffe, Mukama waffe’, ate ne mutakola bye mbagamba? Buli ajja gye ndi, n'awuliriza ebigambo byange, era n'abikolerako, ka mbalage nga bw'afaanana. Afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ng'asimye omusingi, ne gukka nnyo wansi okutuuka ku lwazi. Omugga bwe gwajjula ne gwalaala, ne gukuluggukira awali ennyumba eyo, kyokka ne gutasobola kuginyeenya, kubanga yazimbibwa bulungi. Wabula omuntu awulira ebigambo byange n'atabikolerako, afaanana ng'omuntu eyazimba ku ttaka eryokungulu nga tasimye musingi. Omugga bwe gwakuluggukira w'eri, n'egwa amangwago, n'emenyekerawo ddala.” Yesu bwe yamaliriza ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abamuwuliriza, n'ayingira mu kibuga Kafarunawumu. Waaliwo Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale, eyalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo. Omuddu oyo yali mulwadde, ng'ali kumpi okufa. Omukulu w'ekitongole ky'abaserikale bwe yawulira ebifa ku Yesu, n'amutumira abamu ku Bayudaaya abakulu, ng'amusaba ajje awonye omuddu we. Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti: “Omusajja oyo asaanira omukolere ky'akusaba, kubanga ayagala abantu b'eggwanga lyaffe, era yatuzimbira ekkuŋŋaaniro.” Awo Yesu n'agenda nabo. Bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omukulu w'ekitongole oyo n'atuma banne okumugamba nti: “Ssebo, leka kweteganya, kubanga sisaanira ggwe okuyingira mu nnyumba yange, era kye navudde ndowooza nti sisaanira kujja gy'oli nze nzennyini. Wabula yogera bwogezi kigambo, omuddu wange anaawona. Nange ndi muntu alina bakama bange abanfuga, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti: ‘Genda,’ agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino,’ akikola.” Yesu bwe yawulira ebyo, n'amwewuunya. N'akyukira ekibiina ky'abantu ekyali kimugoberera, n'agamba nti: “Mbagamba nti sisanganga alina kukkiriza nga kuno, wadde mu Bayisirayeli!” Abaali batumiddwa bwe batuuka mu maka ge, ne basanga ng'omuddu we awonye. Awo olwatuuka, nga wayiseewo ekiseera kitono, Yesu n'alaga mu kibuga ekiyitibwa Nayini, abayigirizwa be n'abantu abalala bangi ne bagenda naye. Bwe yali ng'atuuka ku mulyango gw'ekibuga, ne wavaayo abantu abaali bafulumya omulambo gw'omuvubuka, eyali omwana omu yekka ow'omukazi nnamwandu. Abantu bangi nnyo ab'omu kibuga baali ne nnamwandu oyo. Mukama waffe bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa, n'amugamba nti: “Tokaaba.” Olwo n'asembera n'akwata ku katanda akasituliddwako omulambo. Abaali bagusitudde ne bayimirira. Yesu n'agamba nti: “Omuvubuka, nkulagira, golokoka.” Eyali afudde n'atuula, n'atandika okwogera. Yesu n'amuddiza nnyina. Bonna ne bakwatibwa entiisa era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Omulanzi omukulu alabise mu ffe, era Katonda azze okulokola abantu be.” Awo ettutumu lya Yesu ne libuna mu Buyudaaya bwonna ne mu kitundu ekiriraanyeewo. Awo abayigirizwa ba Yowanne ne bamubuulira ebyo byonna. Yowanne n'ayita babiri ku bo, n'abatuma eri Mukama waffe, okumubuuza nti: “Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?” Abasajja abo bwe baatuuka awali Yesu, ne bagamba nti: “Yowanne Omubatiza atutumye gy'oli ng'abuuza nti: ‘Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?’ ” Mu kiseera ekyo kyennyini, Yesu n'awonya bangi endwadde n'okulumizibwa okwa buli ngeri, n'emyoyo emibi, era n'azibula amaaso ga bamuzibe bangi. Awo n'addamu ababaka ba Yowanne nti: “Mugende mutegeeze Yowanne bye mulabye ne bye muwulidde: ababadde bamuzibe balaba; ababadde abalema, batambula; abagenge bawonyezebwa, ababadde bakiggala bawulira; abafu bazuukira, abaavu bategeezebwa Amawulire Amalungi. Wa mukisa oyo atambuusabuusaamu.” Ababaka ba Yowanne bwe bavaawo, Yesu n'atandika okutegeeza ekibiina ky'abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo? Kale mwagenda kulaba ki? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Abo abambala engoye ez'omuwendo era ababa mu bulamu obw'okwejalabya basangibwa mu mbiri za bakabaka. Kale mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Ddala mbagamba nti asinga n'omulanzi. Yowanne oyo, ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba, ntuma omubaka wange akukulembere, ng'akwerulira ekkubo gy'ogenda.’ Mbagamba nti Yowanne asinga abantu bonna ekitiibwa, abaali bazaaliddwa. Kyokka oyo asembayo okuba oweekitiibwa ekitono mu Bwakabaka bwa Katonda, asinga Yowanne oyo ekitiibwa.” Abasolooza b'omusolo n'abantu abalala bonna bwe baawuliriza ebigambo ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga bali babatizibwa Yowanne. Kyokka Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka beggya ku nteekateeka ya Katonda, ne bagaana okubatizibwa. Yesu n'ayongera okugamba abaali bamuwuliriza nti: “Abantu ab'omulembe guno nnaabageraageranya na ki? Kiki kye bafaanana? Bafaanana ng'abaana abato, abatuula mu katale ne bakoowoolagana ne bagamba nti: ‘Twabafuuyidde endere, ne mutazina; twakubye ebiwoobe, ne mutakaaba.’ Yowanne Omubatiza bwe yajja ng'asiiba era nga tanywa mwenge, mwagamba nti: ‘Aliko omwoyo omubi!’ Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne mugamba nti: ‘Omuntu oyo wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’ Wabula abo bonna abakolera ku magezi ga Katonda, bakakasa nti matuufu.” Awo Omufarisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. Yesu n'agenda n'ayingira mu nnyumba y'Omufarisaayo oyo, n'atuula okulya. Mu kibuga ekyo mwalimu omukazi omwonoonyi. Omukazi oyo bwe yamanya nti Yesu atudde okulya mu nnyumba y'Omufarisaayo, n'aleeta eccupa erimu omuzigo oguwunya akawoowo, n'abeera emabega, kumpi n'ebigere bya Yesu. N'akaaba era n'atandika okutobya ebigere bya Yesu n'amaziga, era n'abisiimuuza enviiri ez'oku mutwe gwe. N'abinywegera, era n'abisiiga omuzigo oguwunya akawoowo. Omufarisaayo eyayita Yesu bwe yalaba kino, n'agamba mu mutima gwe nti: “Singa omusajja ono abadde mulanzi, yanditegedde omukazi amwekwatako bw'atyo bw'ali omwonoonyi.” Awo Yesu n'amwatulira, n'agamba nti: “Simooni, nnina kye nkugamba.” Ye n'agamba nti: “Muyigiriza, yogera.” Yesu n'atandika nti: “Waaliwo abantu babiri, abaali babanjibwa omuwozi w'ensimbi. Omu yali abanjibwa denaari ebikumi bitaano, ate omulala denaari amakumi ataano. Bwe baalemwa okusasula, bombi n'abasonyiwa. Kale ani ku bo anaasinga okumwagala?” Simooni n'addamu nti: “Ndowooza nti oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisinga obunene.” Yesu n'amugamba nti: “Osaze bulungi.” Awo n'akyukira omukazi, n'agamba Simooni nti: “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba bigere, naye ono atobezza ebigere byange n'amaziga ge, era n'abisiimuuza enviiri ze. Tewannywegedde, naye ono okuviira ddala lwe nayingidde, tannalekayo kunywegera bigere byange. Tewansiize muzigo mu mutwe, naye ono ebigere byange abisiize omuzigo oguwunya akawoowo. N'olwekyo nkugamba nti asonyiyiddwa ebibi bye ebingi, kubanga alina okwagala kungi. Kyokka asonyiyibwa ebitono, aba n'okwagala kutono.” Awo Yesu n'agamba omukazi nti: “Ebibi byo mbikusonyiye.” Abaali batudde ne Yesu nga balya ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ani asobola n'okusonyiwa abantu ebibi?” Awo Yesu n'agamba omukazi nti: “Owonye olw'okukkiriza kwo, genda mirembe.” Oluvannyumako, Yesu n'atambula olugendo ng'ayita mu bibuga ne mu byalo, ng'ategeeza abantu era ng'abunyisa Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda. Abayigirizwa ekkumi n'ababiri, Awo abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira awali Yesu, nga bava mu buli kibuga, n'abagamba mu lugero nti: “Omusizi yagenda okusiga ensigo. Bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa mu kkubo, ne zirinnyirirwa, era ebinyonyi ne bizirya. Ensigo endala ne zigwa ku ttaka ery'oku lwazi. Bwe zaamera, ne zikala, kubanga ettaka teryalimu mazzi. Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa, ne gakulira wamu nazo, ne gazitta. N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zikula, buli emu n'ebala ensigo kikumi.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.” Awo abayigirizwa ba Yesu ne bamubuuza amakulu g'olugero olwo. Ye n'addamu nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebyama ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, naye abantu abalala babibuulirwa mu ngero, balyoke balabe naye nga tebeetegereza, bawulirize naye nga tebategeera. “Amakulu g'olugero olwo gaagano: ensigo, kye kigambo kya Katonda. Ensigo ezaagwa mu kkubo, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye Sitaani n'ajja n'akiggya mu mitima gyabwe, baleme okukkiriza ne balokolebwa. “Ate ensigo ezaagwa ku ttaka ery'oku lwazi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyaniriza n'essanyu, naye ne baba ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka. Bakkiriza okumala ekiseera kitono, mu kiseera eky'okukemebwa ne baterebuka. “Ezo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye emitawaana, n'obugagga n'amasanyu eby'omu bulamu buno, ne bigenda nga bibamalamu amaanyi, ne batakola bikolwa birungi. “Ate ezo ezaagwa mu ttaka eddungi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda n'omutima omulungi ddala, ne bakikuuma era ne bakola ebikolwa ebirungi nga bagumiikiriza. “Omuntu takoleeza ttaala n'agibikkako ekibbo, oba n'agiteeka wansi wa kitanda, wabula agiteeka ku kikondo kyayo, abantu abayingira balyoke balabe ekitangaala. “Buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu. “Kale nno muwulirize n'obwegendereza: buli alina aliweebwa; ate buli atalina, n'ekyo ky'alowooza okuba nakyo, kirimuggyibwako.” Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy'ali, kyokka ne batasobola kumutuukako olw'obungi bw'abantu. Awo abantu abamu ne bamugamba nti: “Nnyoko ne baganda bo bali wabweru, baagala okukulaba.” Yesu n'addamu nti: “Mmange ne baganda bange be bo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.” Awo ku lunaku olumu, Yesu n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja.” Ne bagenda. Bwe baali mu lyato nga bagenda, Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, eryato ne liba kumpi okujjula amazzi, bonna ne baba mu kabi. Awo abayigirizwa ne basembera awali Yesu ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Muyigiriza, Muyigiriza, tufa!” Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'amayengo g'ennyanja. Omuyaga ne gukoma, ennyanja n'eteeka. Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Lwaki temulina kukkiriza?” Bo nga batidde, era nga beewuunya, ne bagambagana nti: “Kale ono ye ani? Olaba n'omuyaga era n'amayengo abiragira ne bimuwulira!” Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagoba ku lukalu lw'ensi y'Abagerasa, etunuulidde Galilaaya. Yesu bwe yali nga ky'ajje atuuke ku lukalu, omusajja eyava mu kibuga, era aliko emyoyo emibi, n'amusisinkana. Omusajja oyo yali amaze ekiseera kiwanvu nga tayambala, era nga taba mu nnyumba, wabula mu mpuku eziziikibwamu abafu. Bwe yalaba Yesu, n'awowoggana nnyo, n'afukamira mu maaso ge, era n'aleekaana nnyo nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu Omwana wa Katonda Atenkanika? Nkwegayiridde tombonyaabonya!” Yagamba bw'atyo kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku muntu oyo. Emirundi mingi gwamukwatanga, ne bamukuuma nga musibe n'enjegere, kyokka n'azikutulanga, ne gumutwala mu malungu. Yesu n'agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne guddamu nti: “Nze Ggye,” kubanga emyoyo emibi gyali mingi ku muntu oyo. Awo ne gyegayirira Yesu aleme kugiragira kugenda magombe. Ku lusozi awo waaliwo eggana ly'embizzi ddene, nga zirya. Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu agikkirize giyingire mu mbizzi ezo. N'agikkiriza. Awo ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi. Abaali bazirabirira bwe baalaba ekiguddewo, ne badduka, ne bagenda bategeeza ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo. Ne batuuka awali Yesu, ne basanga omuntu ng'emyoyo emibi gimuvuddeko. Baamusanga atudde kumpi n'ebigere bya Yesu, era ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya. Abo abaaliwo ng'emyoyo emibi giva ku muntu oyo, ne banyumiza abantu nga bwe yawonyezeddwa. Olwo abantu bonna ab'omu nsi y'Abagerasa ne basaba Yesu ave ewaabwe, kubanga baali batidde nnyo. Awo Yesu n'asaabala mu lyato, agende. Omuntu eyagobwako emyoyo emibi ne yeegayirira Yesu amukkirize ayitenga naye. Kyokka Yesu n'amusiibula ng'agamba nti: “Ddayo ewammwe, onyumize abantu byonna Mukama by'akukoledde.” Awo omuntu oyo n'atambula ekibuga kyonna ng'ategeeza abantu byonna ebyamukolerwa Yesu. Yesu bwe yakomawo, abantu bangi ne bamwaniriza, kubanga bonna baali bamulindirira. Awo omusajja ayitibwa Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'ajja n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, n'amwegayirira agende ayingire mu nnyumba ye, kubanga muwala we ow'emyaka ekkumi n'ebiri, ate nga ye mwana gwe yalina yekka, yali kumpi okufa. Yesu bwe yali ng'agenda, ebibiina by'abantu ne bimunyigiriza. Waaliwo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky'omusaayi okumala emyaka kkumi n'ebiri, era ng'awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo, kyokka nga tewali asobola kumuwonya. Awo n'ajja emabega wa Yesu, n'amukwata ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi gwe ne kikalira. Yesu n'abuuza nti: “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana. Peetero n'agamba nti: “Muyigiriza, abantu bangi abakwekuusaako, era abakunyigiriza!” Kyokka Yesu n'agamba nti: “Waliwo ankutteko, kubanga mpulidde ng'obuyinza bwange obuwonya bukoze.” Omukazi bwe yalaba nga tasobodde kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'afukamira awali Yesu, n'amutegeeza ng'abantu bonna bawulira, ensonga kye yavudde amukwatako, era nga bwe yawonye amangwago. Yesu n'amugamba nti: “Muwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe.” Yesu yali akyayogera, omubaka eyava mu maka g'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'ajja, n'ategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde. Leka kuteganya Muyigiriza.” Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza, muwala wo ajja kulamuka.” Yesu bwe yatuuka ku nnyumba, n'agaana abalala bonna okuyingira naye, okuggyako Peetero, ne Yowanne, ne Yakobo, n'abazadde b'omwana. Abantu bonna abaaliwo, baali bakaaba era nga bakuba ebiwoobe olw'omwana oyo. Kyokka Yesu n'agamba nti: “Temukaaba, kubanga tafudde, wabula yeebase.” Bonna ne bamusekerera, kubanga baali bamanyi nti omwana afudde. Kyokka Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyita nti: “Omwana, golokoka!” Awo omwana n'alamuka, era n'ayimirira amangwago. Yesu n'alagira nti: “Mumuwe emmere alye.” Abazadde b'omwana ono ne beewuunya. Kyokka Yesu n'abakuutira obutabuulirako muntu n'omu ekibaddewo. Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba emyoyo emibi gyonna ku bantu n'okuwonya endwadde. N'abatuma bagende bategeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era bawonye abalwadde. N'abagamba nti: “Mu lugendo luno, temugenda na kantu konna, newaakubadde omuggo, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, newaakubadde emmere, wadde ensimbi, era temuba na kkanzu yaakubiri. Ennyumba gye muyingiramu ne babaaniriza, mwe mubanga musula okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. Mu kibuga gye bagaana okubaaniriza, muveeyo era bwe muba nga muvaayo, mwekunkumuleko n'enfuufu eba ebakutte ku bigere, olw'okulabula abantu abo.” Awo abayigirizwa ne bagenda, ne batambula wonna wonna mu byalo, nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi era nga bawonya abalwadde buli wantu. Awo Herode, omufuzi wa Galilaaya, n'awulira byonna ebyaliwo, n'asoberwa nnyo, kubanga abantu abamu baagambanga nti: “Yowanne Omubatiza azuukidde!” Abalala nga bagamba nti: “Eliya alabise”, n'abalala nti: “Omu ku balanzi ab'edda azuukidde.” Herode n'agamba nti: “Yowanne nze nalagira n'atemwako omutwe, ate oyo ani gwe mpulirako ebyenkana awo?” N'agezaako okumulaba. Abatume ne bakomawo, ne bategeeza Yesu byonna bye baakola. N'abatwala, ne bagenda naye bokka mu kibuga ekiyitibwa Betusayida. Abantu bangi nnyo bwe baakimanya, ne bamugoberera. Bwe yamala okubaaniriza, n'ababuulira ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era n'awonya abaali beetaaga okuwonyezebwa. Obudde bwe bwali butandika okuwungeera, abayigirizwa ekkumi n'ababiri ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Abantu basiibule bagende mu bubuga ne mu byalo ebiriraanye wano, bafune emmere ne we banaasula, kubanga wano tuli mu kifo kya ddungu.” Kyokka Yesu n'abagamba nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Ne baddamu nti: “Tulinawo emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri. Mpozzi okuggyako nga tugenda ne tugulira abantu bano bonna emmere!” Abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze mu bibinja nga buli kimu kirimu ng'amakumi ataano.” Ne bakola bwe batyo, bonna ne babatuuza. Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso ge eri eggulu, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abiwa abayigirizwa be babigabire abantu. Bonna ne balya ne bakkuta. Obutundutundu obwalemerawo, ne bukuŋŋaanyizibwa, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri. Lwali lumu, Yesu yali asinza Katonda, nga n'abayigirizwa be weebali, n'ababuuza nti: “Abantu bwe baba banjogerako bampita ani?” Ne baddamu nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza, abalala Eliya, n'abalala bagamba nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde.” Awo Yesu n'ababuuza nti: “Naye mmwe, mumpita ani?” Peetero n'addamu nti: “Ggwe Kristo wa Katonda.” Awo Yesu n'abakuutira nnyo ekyo obutakibuulirako muntu n'omu. Era n'agamba nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.” Awo n'agamba bonna nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe buli lunaku, n'angoberera. Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Wabula buli afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola. Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate ne yeezikiriza, oba ne yeeretera okufiirwa obulamu bwe? “Buli muntu akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne mu kitiibwa kya Kitaawe, ne mu kya bamalayika abatukuvu. Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Obwakabaka bwa Katonda.” Bwe waayitawo ennaku nga munaana nga Yesu amaze okwogera ebyo, n'atwala Peetero ne Yowanne ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusinza Katonda. Bwe yali ng'akyasinza, endabika y'amaaso ge n'efuuka, era ebyambalo bye ne bitukula, ne byakaayakana. Awo abasajja babiri, Musa ne Eliya, ne balabika nga boogera naye. Baalabikira mu kitiibwa, era ne boogera ku ngeri y'okufa kwe, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemu. Peetero ne banne be yali nabo, baali bakwatiddwa otulo, kyokka bwe baazuukuka, ne balaba ekitiibwa kya Yesu, n'abasajja ababiri abaali bayimiridde naye. Abasajja bano bwe baali bava awali Yesu, Peetero n'amugamba nti: “Mukama waffe, kirungi tubeere wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu, emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'agamba. Bwe yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, awo abayigirizwa ne batya nga kibabikka. Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange, Omulonde wange, mumuwulirize.” Eddoboozi bwe lyamala okwogera, abayigirizwa ne balaba Yesu ng'asigaddewo yekka. Kye baalaba ne bakisirikira, ne batakibuulirako muntu mulala mu nnaku ezo. Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be abasatu bwe baava ku lusozi, ekibiina ky'abantu kinene ne kijja okusisinkana Yesu. Awo omusajja eyali mu kibiina ky'abantu n'aleekaana nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, kwatirwa mutabani wange ekisa, ye mwana wange yekka! Omwoyo omubi gumukwata, amangwago n'awowoggana, ne gumujugumiza, n'abimba ejjovu, era okumuvaako, gumala kumumaliramu ddala maanyi. Neegayiridde abayigirizwa bo okugumugobako, ne balemwa.” Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza?” Awo n'agamba kitaawe w'omulenzi nti: “Mutabani wo muleete wano.” Omulenzi bwe yali ng'ajja, omwoyo omubi ne gumukuba ekigwo, era ne gumujugumiza. Yesu n'aguboggolera, n'awonya omulenzi era n'amuddiza kitaawe. Bonna ne bawuniikirira olw'obuyinza bwa Katonda. Abantu baali bakyewuunya byonna Yesu by'akoze, ye n'agamba abayigirizwa be nti: “Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange bino: Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu.” Kyokka bo ne batategeera ky'agambye. Kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera, ate ne batya okumubuuza amakulu gaakyo. Awo abayigirizwa ne bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo. Yesu n'amanya kye balowooza, n'aleeta omwana omuto, n'amuyimiriza kumpi naye. N'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba ayanirizza Katonda eyantuma, kubanga oyo asinga okuba omwetoowaze mu mmwe mwenna, ye asinga okuba oweekitiibwa.” Yowanne n'agamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.” Yesu n'amugamba nti: “Temumuziyiza, kubanga atabalwanyisa taba mulabe wammwe.” Awo olwatuuka, ennaku za Yesu ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali nga ziri kumpi okutuuka, n'amalirira okugenda e Yerusaalemu. N'atuma ababaka bamukulemberemu, ne bagenda ne bayingira mu kabuga k'Abasamariya akamu, okumutegekera byonna. Kyokka abantu baayo ne bagaana okumwaniriza, kubanga yali alabikira ddala nti agenda Yerusaalemu. Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanne, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?” Yesu n'abakyukira n'abanenya. Awo ne bagenda mu kabuga akalala. Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga batambula, omuntu omu n'agamba Yesu nti: “Nnaayitanga naawe gy'onoogendanga yonna.” Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.” Ate n'agamba omulala nti: “Yitanga nange.” Kyokka oyo n'addamu nti: “Ssebo, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” Yesu n'amugamba nti: “Leka abo abali ng'abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda otegeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda.” Omuntu omulala n'agamba nti: “Ssebo, nja kuyitanga naawe, naye nzikiriza mmale okusiibula ab'ewaffe.” Yesu n'amugamba nti: “Buli akwata enkumbi okulima ate n'aba ng'akyatunula emabega, tayinza kuba wa mugaso mu Bwakabaka bwa Katonda.” Ebyo bwe byaggwa, Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu mu babiri, n'abatuma babiri babiri okumukulemberamu mu buli kibuga ne mu buli kifo ye yennyini gye yali anaatera okugenda. N'abagamba nti: “Eby'okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale musabe nnannyini byakukungula, asindike abakozi mu nnimiro ye. Mugende. Mbatuma nga muli ng'endiga ento mu misege. Temugenda na nsawo eterekebwamu nsimbi, newaakubadde ensawo ng'ey'abasabiriza, newaakubadde engatto. Era temulwa mu kkubo nga mulamusa abantu. Buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga kugamba nti: ‘Emirembe gibe n'abantu b'omu nnyumba eno.’ Singa eribaamu omuntu asaanira okufuna emirembe, emirembe gye mubaagalizza girisigala naye. Bw'atalibaamu, giridda gye muli. Mu nnyumba eyo, mwe mubanga musula. Mulyenga era munywenga bye babawa, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temukyusanga kisulo. Bwe muyingiranga mu kibuga ne babaaniriza, mulyenga emmere gye babawa. Muwonyanga abalwadde abali mu kibuga ekyo, era mugambanga abantu baamu nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’ Naye bwe muyingiranga mu kibuga ne batabaaniriza, muyimiriranga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti: ‘N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe etukutte ku bigere, tugibakunkumulira mmwe. Naye mumanye kino nti Obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ Mbagamba mmwe nti: ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Sodoma kiriddirwamu okusinga ekibuga ekyo. “Oli wa kubonaabona ggwe Koraziini! Ennaku za kukulaba ggwe Betusayida! Ebyamagero ebyakolerwa mu mmwe singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne mu Sidoni, abantu baayo bandibadde baayambala dda ebikutiya, ne beesiiga n'evvu, okulaga nti beenenyezza. Zek 9:2-4 Ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Tiiro ne Sidoni biribonerezebwa katono okusinga mmwe. Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumira okutuuka mu bire? Nedda, ogenda kussibwa wansi emagombe. “Awulira mmwe, ng'awulidde nze. Era anyooma mmwe, ng'anyoomye nze. Ate anyooma nze, ng'anyoomye oyo eyantuma.” Awo abayigirizwa ensanvu mu ababiri ne bakomawo nga basanyuka, ne bagamba nti: “Mukama waffe, n'emyoyo emibi gyatuwuliranga nga tukozesezza erinnya lyo.” Yesu n'abagamba nti: “Nalaba Sitaani bw'agwa, ng'ali ng'okumyansa okuva mu ggulu. Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez'obusagwa, era mbawadde okuwangula amaanyi gonna ag'omulabe. Tewali kintu na kimu kiribakolako kabi. Naye muleme kusanyuka lwa kuba nti emyoyo emibi gibawulira, wabula musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.” Mu kiseera ekyo kyennyini, Mwoyo Mutuukirivu n'ajjuza Yesu essanyu, Yesu n'agamba nti: “Nkutendereza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abategeera, n'obimanyisa abaana abato. Weewaawo Kitange, kubanga bw'otyo bwe wayagala. “Kitange byonna yabimpa. Ate nze Mwana tewali ammanyi okuggyako Kitange. Era tewali amanyi Kitange okuggyako nze Mwana, n'oyo gwe mba njagadde amanye Kitange.” Awo Yesu bwe yasigala n'abayigirizwa be bokka, n'abakyukira n'agamba nti: “Muli ba mukisa okulaba bino bye mulaba! Mbagamba nti abalanzi bangi ne bakabaka beegomba okulaba bye mulaba, ne batabiraba. n'okuwulira bye muwulira, ne batabiwulira.” Awo omunnyonnyozi w'amateeka n'asituka, n'agamba Yesu, ng'amukema, nti: “Muyigiriza, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu n'amugamba nti: “Kiki ekyawandiikibwa mu mateeka ga Katonda? Osoma otya?” N'addamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna. Era yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.” Yesu n'amugamba nti: “Ozzeemu bulungi. Kolanga bw'otyo, olifuna obulamu.” Kyokka omunnyonnyozi w'amateeka olw'okwagala okulaga nti ky'abuuzizza kisaanidde, n'agamba Yesu nti: “Muntu munnange oyo, ye ani?” Yesu n'addamu nti: “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemu, ng'aserengeta e Yeriko, n'agwa mu batemu, ne bamwambulamu engoye, ne bamukuba, ne bamuleka ng'abulako katono okufa, ne bagenda. Ne wabaawo kabona, era naye eyaserengeta mu kkubo eryo, n'amulaba, n'amwebalama, n'ayitawo. N'Omuleevi yakola bw'atyo. Bwe yatuuka mu kifo ekyo n'amulaba, n'amwebalama, n'ayitawo. Naye Omusamariya eyali ku lugendo lwe, n'atuuka w'ali. Bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa, n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu, ng'amaze okubifukamu omuzigo n'omwenge ogw'emizabbibu, n'amussa ku nsolo ye eyeebagalwa, n'amutwala mu nnyumba y'abagenyi, n'amujjanjaba. Ku lunaku olwaddirira, n'aggyayo denaari bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba, n'amugamba nti: ‘Mujjanjabe. Ssente zonna z'olikozesa nga zisukka ku zino, ndizikusasula amadda.’ “Ani ku abo abasatu, gw'olowooza nti ye yali munne w'oyo eyagwa mu batemu?” Omunnyonnyozi w'amateeka n'addamu nti: “Oyo eyamukwatirwa ekisa.” Awo Yesu n'amugamba nti: “Naawe genda okolenga bw'otyo.” Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali mu lugendo lwabwe, Yesu n'atuuka mu kyalo ekimu. Omukazi erinnya lye Marita n'amukyaza mu nnyumba ye. Marita yalina muganda we ayitibwa Mariya. Mariya oyo n'atuula kumpi n'ebigere bya Mukama waffe, ng'awuliriza ekigambo kye. Marita yali atawuka mu mirimu mingi, ng'aweereza. Marita n'agenda awali Yesu n'agamba nti: “Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Kale mugambeko annyambe.” Mukama waffe n'amuddamu nti: “Marita, Marita, weeraliikirira era otawaana mu bingi, naye ekyetaagibwa kiri kimu. Mariya nno ye alonze omugabo omulungi ogutalimuggyibwako.” Lwali lumu, Yesu yali mu kifo ekimu ng'asinza Katonda. Bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusinza Katonda, nga Yowanne bwe yayigiriza abayigirizwa be.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Bwe mubanga musinza Katonda, mugambanga nti: ‘Kitaffe, erinnya lyo lyatulwe nga bwe liri ettukuvu, Obwakabaka bwo bujje. Otuwe buli lunaku emmere gye twetaaga. Era otusonyiwe ebibi byaffe, kubanga naffe tusonyiwa buli akola ebitulumya. Era totuleka kukemebwa.’ ” Awo n'abagamba nti: “Singa omu ku mmwe aba ne mukwano gwe, n'agenda gy'ali ettumbi n'amugamba nti: ‘Munnange, mpola emigaati esatu, kubanga mukwano gwange atuuse ng'ava lugendo, ate sirina kye mmuwa’; kyokka oli, ng'ali mu nnyumba, n'addamu nti: ‘Tonteganya, oluggi nalusibye dda, era abaana bange nange tuli mu buliri. Siyinza kugolokoka kukuwa.’ Mbagamba nti newaakubadde taagolokoke kumuwa olw'okuba mukwano gwe, kyokka olw'okumuteganya, anaagolokoka n'amuwa kyonna kye yeetaaga. Kale mbagamba nti musabe, muliweebwa; munoonye, mulizuula; mukonkone ku luggi, muliggulirwawo, kubanga buli asaba afuna, anoonya azuula, n'akonkona ku luggi aggulirwawo. Era ani ku mmwe kitaawe w'omwana, awa omwana we omusota mu kifo ky'ekyennyanja ky'amusabye, oba amuwa enjaba ey'obusagwa ng'asabye eggi? Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa Mwoyo Mutuukirivu abamumusaba?” Yesu yali agoba ku muntu omwoyo omubi era gukasiru. Awo omuntu oyo kasiru, omwoyo omubi bwe gwamuvaako, n'atandika okwogera. Abantu ne beewuunya. Kyokka abamu ku bo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ng'akozesa buyinza bwa Beeluzebuli omukulu waagyo.” N'abalala ne bamusaba nga bamukema, abawe akabonero akalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda. Kyokka bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Era ne bwe gaba maka, gasasika. Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obwakabaka bwe bunaasigalawo butya? Mmwe mugamba nti ngoba emyoyo emibi ku bantu, nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli. Kale oba nga nze ngoba emyoyo emibi nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli, abagoberezi bammwe bo bagigoba nga bakozesa buyinza bw'ani? Kyebaliva babasalira mmwe omusango. Naye oba ng'emyoyo emibi ngigoba ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda butuuse mu mmwe. “Omuntu ow'amaanyi, alina ebyokulwanyisa, bw'akuuma ennyumba ye, ebintu bye biba mirembe. Kyokka amusinga amaanyi bw'amulumba n'amuwangula, atwala ebyokulwanyisa bye by'abadde yeesiga, n'ebintu bye ebinyage n'abigaba. “Ataba ku ludda lwange, mulabe wange, era atannyamba kukuŋŋaanya, asaasaanya. “Omwoyo omubi bwe guva ku muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi, nga gunoonya we gunaawummulira. Bwe gutazuulawo, gugamba nti: ‘Nja kudda mu nnyumba yange mwe nava.’ Bwe gudda, gugisanga ng'eyereddwa, era ng'etegekeddwa bulungi. Olwo ne gugenda ne guleeta emirala musanvu egigusinga obubi, ne giyingira ne gibeera omwo. Embeera y'omuntu oyo ey'oluvannyuma, n'eba mbi okusinga eyasooka.” Awo olwatuuka, Yesu bwe yali akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina ky'abantu, n'ayimusa eddoboozi n'amugamba nti: “Olubuto mwe wakulira lwa mukisa, n'amabeere agaakuyonsa ga mukisa!” Kyokka Yesu n'agamba nti: “Abasinga okuba ab'omukisa beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.” Awo Yesu, abantu bangi bwe baakuŋŋaanira w'ali, n'atandika okugamba nti: “Abantu b'omulembe guno bantu babi! Basaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kubaweebwa okuggyako akabonero ka Yona. Kale nga Yona bwe yali akabonero eri abantu b'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu bw'ajja okuba eri abantu b'omulembe guno. Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo alisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, n'abalumiriza omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y'ensi n'ajja okuwuliriza ebigambo bya Solomooni eby'amagezi. Naye laba asinga Solomooni ali wano. Abantu b'e Nineeve balisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, ne babalumiriza omusango okubasinga, kubanga bo beenenya nga Yona abategeezezza ekigambo kya Katonda, naye laba asinga Yona ali wano. “Omuntu takoleeza ttaala n'agikweka mu kinnya oba mu kibbo, wabula agiteeka ku kikondo, abantu abayingira balyoke balabe ekitangaala. Ettaala y'omubiri gwo lye liiso lyo. Eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu. Naye bwe litaba ddamu, omubiri gwo gujjula ekizikiza. Kale nno weetegereze oba ng'obutangaavu mu ggwe, si kizikiza. Kale singa omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu, era nga tegulina kitundu na kimu kya kizikiza, gulitangaalira ddala, ng'ettaala bw'ekumulisa n'ekitangaala kyayo.” Yesu bwe yamaliriza okwogera ebyo, Omufarisaayo n'amusaba okulya naye ekyemisana. Awo Yesu n'ayingira n'atuula okulya. Omufarisaayo ne yeewuunya okulaba nga Yesu tasoose kunaaba nga tannalya. Awo Mukama waffe n'amugamba nti: “Mmwe Abafarisaayo mwoza kungulu wa bikopo, na kungulu wa bibya. Naye mu mitima gyammwe mujjudde obunyazi n'ebibi. Basirusiru mmwe! Oyo eyatonda ebyokungulu, si ye yatonda n'ebyomunda? Naye ebiri mu ndeku n'ebiri mu bibya mubigabire abaavu, olwo ebintu byonna bijja kubabeerera birongoofu. “Naye mmwe Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Muwa ekimu eky'ekkumi ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mulagajjalira obwenkanya n'okwagala Katonda. Bino biteekwa okukolebwa, na biri nga tebiragajjalirwa. “Mmwe Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Mwagala ebifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n'okulamusibwa mu butale. Muli ba kubonaabona mmwe! Muli ng'amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako ne batagamanya nti malaalo.” Awo omu ku bannyonnyozi b'amateeka n'amugamba nti “Muyigiriza, bw'oyogera bw'otyo, nga naffe otuvumye.” Yesu n'agamba nti: “Nammwe abannyonnyozi b'amateeka, muli ba kubonaabona! Mulagira abantu okwetikka emigugu egiteetikkika, mmwe mwennyini ne mutagikwatako wadde n'olugalo lwammwe olumu. Muli ba kubonaabona mmwe! Muzimba amalaalo g'abalanzi, sso nga battibwa bajjajjammwe. Bwe mutyo mulaga nti musiima bajjajjammwe bye baakola. Bo batta abalanzi, ate mmwe ne muzimba amalaalo g'abalanzi abo. N'olwekyo Amagezi ga Katonda kyegava gagamba nti: ‘Ndibatumira abalanzi n'abatume, abamu ku bo balibatta, n'abalala balibayigganya.’ Omusaayi gw'abalanzi bonna ogwayiibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi, kyeguliva guvunaanibwa abantu b'omulembe guno, okuva ku musaayi gwa Abeeli, okutuuka ku gwa Zakariya eyattirwa wakati wa alutaari, n'ekifo ekitukuvu mu Ssinzizo. Weewaawo, mbagamba nti gulivunaanibwa abantu b'omulembe guno. “Muli ba kubonaabona mmwe abannyonnyozi b'amateeka! Mwaggyawo ekisumuluzo ekisumulula oluggi olw'okumanya, mmwe mwennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza abo abaali bayingira.” Yesu bwe yava mu kifo ekyo, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne batandika okumuketta ennyo n'okumukemereza okwogera ku bintu bingi, nga bamutega okumukwasa mu bigambo by'ayogera. Mu kiseera ekyo, abantu nkumi na nkumi bwe baakuŋŋaana ne batuuka n'okulinnyaganako, Yesu n'asookera ku bayigirizwa be n'abagamba nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo, bwe bukuusa. Buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli ekikisiddwa, kirimanyibwa. Byonna bye mwali mwogedde mu nzikiza, birirangirirwa mu musana, ne kye mwali mwogedde mu kaama mu bisenge, kirirangirirwa ku ntikko z'ennyumba. “Mbagamba mmwe mikwano gyange nti temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma nga tebalina kisingawo kye bayinza kukola. Naye ka mbalage gwe muteekwa okutya: mutyenga Katonda alina obuyinza ng'amaze okutta, okusuula mu muliro ogutazikira. Weewaawo mbagamba nti: mumutyenga! “Enkazaluggya ttaano tezigula busente mpa we buzira? Naye tewali wadde emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. Era n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zonna mbale. Temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi. “Era mbagamba nti buli anjatula mu maaso g'abantu, n'Omwana w'Omuntu alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. Naye oyo anneegaana mu maaso g'abantu, alyegaanibwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda. “Era buli ayogera obubi ku Mwana w'Omuntu, alisonyiyibwa; naye oyo avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa. Bwe babatwalanga mu makuŋŋaaniro, oba mu maaso g'abalamuzi oba ag'ab'obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaayanukula, oba kye munaayogera. Mwoyo Mutuukirivu alibategeeza mu kiseera ekyo kyennyini, bye musaanidde okwogera.” Awo omu mu kibiina ky'abantu, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by'obusika bwaffe.” Yesu n'amugamba nti: “Owange, ani yanteekawo okubalamula oba okubagabanyizaamu ebyammwe?” Awo n'agamba abaaliwo nti: “Mutunule era mwekuume okululunkanira ebintu, kubanga obulamu bw'omuntu tebuba mu bya kufuna ne bw'aba na bingi bitya.” Awo n'abagerera olugero ng'agamba nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina ennimiro, n'eyeza ebibala. Ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola? Sirina we nnaateeka bibala byange!’ N'agamba nti: ‘Kiikino kye nnaakola. Nja kumenyawo ennyumba zange mwe ntereka, nzimbe ezisingawo obunene. Omwo mwe nnaatereka ebirime byonna eby'empeke, n'ebintu byange ebirala. Olwo ndigamba omwoyo gwange nti mwoyo gwange, olina ebintu bingi ebiterekeddwa okumala emyaka mingi. Wummula, olye, onywe, osanyuke!’ Kyokka Katonda n'amugamba nti: ‘Musirusiru ggwe! Mu kiro kino obulamu bwo bwa kukuggyibwako. Kale by'otegese binaaba by'ani?’ Bw'atyo bw'aba eyeeterekera ebyobugagga, sso nga si mugagga mu bya Katonda.” Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya, newaakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala. Obulamu bwa muwendo okusinga emmere, n'omubiri gwa muwendo okusinga ebyokwambala. Mutunuulire nnamuŋŋoona. Tasiga, takungula, era talina kisenge wadde ennyumba mw'atereka, naye Katonda amuwa emmere. Mmwe temusinga nnyo ebinyonyi? Era ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku buwanvu bw'obulamu bwe? Kale oba nga temuyinza kukola wadde ekintu ekitono ng'ekyo, lwaki mweraliikirira ebirala? Mutunuulire amalanga. Tegakola mulimu, wadde okuluka engoye, naye mbagamba nti newaakubadde Solomooni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go. Oba nga Katonda ayambaza bw'atyo omuddo oguliwo mu nnimiro olwaleero, ate enkeera ne gusuulibwa ku kikoomi, talisingawo nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? “Mmwe temwemaliranga ku kunoonya kye munaalya, oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga. Ebyo byonna abantu ab'ensi bye beemalirako. Mmwe Kitammwe amanyi nti bino mubyetaaga. Naye mwemalirenga ku Bwakabaka bwe, ebyo nabyo biribaweebwa. “Temutya, mmwe ekibiina ekitono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa Obwakabaka. Mutunde ebintu byammwe, mugabire abaavu, mwekolere ensawo ezitaggwaamu nsimbi, mweterekere obugagga obutaggwaawo mu ggulu, omubbi gy'atatuuka, era eteri nnyenje kubwonoona, kubanga obugagga bwammwe gye buba n'omutima gwammwe gye guba. “Mube beetegefu nga mwesibye ebimyu byammwe, era n'ettaala zammwe nga zaaka. Era mube ng'abantu abalindirira mukama waabwe okudda ng'ava ku mbaga ey'obugole, balyoke bamuggulirewo amangwago nga yaakakonkona. Ba mukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja, b'alisanga nga batunula. Mazima mbagamba nti alyesiba ekimyu n'abatuuza okulya, n'agenda ng'abaweereza. Singa ajja ekiro mu luwalo olwokubiri oba olwokusatu olw'okukuuma, n'abasanga bwe batyo, abaddu abo ba mukisa. Era mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya essaawa omubbi gy'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa. Nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.” Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe oba olugeredde bonna?” Mukama waffe n'agamba nti: “Kale ani omuwanika omwesigwa omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo? Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. Mazima mbagamba nti alimuteekawo okulabirira ebintu bye byonna. Naye omuddu oyo singa agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okujja,’ n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, era n'atandika okulya n'okunywa, n'okutamiira, kale mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamulindirira, ne mu ssaawa gy'atamanyi. Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abatakkiriza. “Ate omuddu eyamanya mukama we ky'ayagala, kyokka n'atategeka oba n'atakola nga mukama we bw'ayagala, alikubibwa emiggo mingi. Wabula oyo ataamanya, n'akola ekimusaanyiza okukubibwa, alikubwa mitono. Buli eyaweebwa ebingi, alisabibwa bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, balimubuuza ebisingawo ku bye yateresebwa. “Najja kukoleeza muliro ku nsi. Singa nno gwase! Nnina okubatizibwa kwe ŋŋenda okubatizibwamu, era neeraliikirira nnyo okutuusa lwe kulituukirizibwa. Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti si bwe kiri, wabula okwawukana. Okuva kati, abataano mu nnyumba emu balyesalamu, abasatu ne bawakanya ababiri, n'ababiri ne bawakanya abasatu. Bano balyesalamu: nnyina w'omwana ne muwala we; omuwala ne nnyina; nnyazaala ne muka mwana we; muka mwana ne nnyazaala we.” Ate n'agamba n'ebibiina by'abantu nti: “Bwe mulaba ekire nga kiva ebugwanjuba, amangwago mugamba nti: ‘Enkuba eneetonnya.’ Era bwe kityo bwe kiba. Era empewo ey'omu bukiikaddyo bw'efuuwa, mugamba nti: ‘Omusana gujja kwaka nnyo.’ Era bwe kiba. Bakuusa mmwe! Mumanyi okunnyonnyola amakulu g'endabika y'ensi n'ey'eggulu. Kale lwaki temumanyi makulu ga kiseera kino? “Lwaki mmwe mwennyini temwesalirawo kituufu? Bw'oba ng'ogenda ew'omulamuzi n'omuntu akuwawaabira, fuba okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'omuserikale n'akusuula mu kkomera. Nkugamba nti omwo tolivaamu okutuusa lw'olisasula ssente esembayo.” Awo mu kiseera ekyo, ne wabaawo abaabuulira Yesu ku Bagalilaaya Pilaato be yatta, n'atabula omusaayi gwabwe wamu n'ogw'ebitambiro byabwe. Yesu n'abaddamu nti: “Olw'okubanga Abagalilaaya bano baabonyaabonyezebwa batyo, mulowooza nti baali boonoonyi okusinga Abagalilaaya abalala bonna? Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira. Oba bali ekkumi n'omunaana, omunaala be gwagwako e Silowaamu ne gubatta mulowooza nti bo baali boonoonyi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemu? Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira.” Awo Yesu n'agera olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyalina omuti omutiini, ogwali gusimbiddwa mu nnimiro ye ey'emizabbibu. N'ajja okugunoonyaako ebibala, n'atasangako na kimu. N'agamba omulimi w'ennimiro nti: ‘Laba, kati emyaka esatu nga nzija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne sibisangako. Gutemewo, ate gwonoonera ki ettaka?’ Kyokka omulimi w'ennimiro n'amuddamu nti: ‘Mukama wange, guleke ne mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera n'okuguteekako ebigimusa. Singa gulibala ebibala omwaka ogujja, kirungi; bwe gutalibala, oligutemawo.’ ” Ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu yali ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro. Waaliwo omukazi eyaliko omwoyo omubi, ogwali gumumazeemu amaanyi okumala emyaka kkumi na munaana. Yali yeewese, era nga tayinza kwegolola n'akatono. Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti: “Mukazi wattu, oggyiddwako obulwadde bwo.” N'amukwatako, amangwago omukazi n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda. Kyokka omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga, kubanga Yesu awonyezza ku Sabbaato. N'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Ennaku ziri mukaaga eziteekwa okukolerwako emirimu. Kale mujjenga ku ezo muwonyezebwe, naye si ku lunaku lwa Sabbaato.” Mukama waffe n'amuddamu nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu ku mmwe tayimbula nte ye, oba ndogoyi ye mu kisibo ku Sabbaato, n'agitwala okunywa? Kale omukazi ono, muzzukulu wa Aburahamu, Sitaani gw'abadde asibye okumala emyaka ekkumi n'omunaana, abadde tasaanidde kuggyibwa mu busibe buno ku lunaku lwa Sabbaato?” Bwe yali ng'ayogera bino, abalabe be ne bakwatibwa ensonyi, ate ekibiina ky'abantu kyonna ne kisanyuka olwa byonna eby'ettendo bye yali akola. Yesu ate n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa na ki, era nnaabugeraageranya na ki? Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasuula mu nnimiro ye, ne kamera, ne kavaamu omuti, era ebinyonyi ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.” Yesu era n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda nnaabugeraageranya na ki? Bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.” Awo Yesu n'ayitaayita mu bibuga ne mu byalo ng'ayigiriza, ng'agenda e Yerusaalemu. Omu n'amubuuza nti: “Mukama wange, abalokolebwa be batono?” Yesu n'abagamba nti: “Mufube okuyingirira mu mulyango omufunda. Mbagamba nti bangi baligezaako okuyingira, ne batasobola. Nnannyini nnyumba bw'aliba amaze okusituka n'aggalawo oluggi, muliyimirira wabweru, ne mutandika okukonkona ku luggi nga mugamba nti: ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Alibaddamu nti: ‘Sibamanyi gye muva.’ Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigirizanga mu nguudo zaffe.’ Aliddamu ng'agamba nti: ‘Simanyi gye muva. Muve we ndi, mwenna abakozi b'ebibi.’ Walibaawo okukaaba n'okuluma obujiji, bwe muliraba Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'abalanzi bonna, mu Bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru. Era abantu baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne ddyo, ne batuula ku mbaga mu Bwakabaka bwa Katonda. Era laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.” Mu kiseera ekyo kyennyini, Abafarisaayo abamu ne bajja, ne bagamba Yesu nti: “Va wano ogende, kubanga Herode ayagala kukutta.” Yesu n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Laba, ngoba emyoyo emibi ku bantu, era mponya abalwadde leero ne jjo, ate luli mmaliriza.’ Naye leero ne jjo ne luli, nteekwa okwongera okutambula, kubanga tekiyinzika omulanzi okuttirwa awantu awalala okuggyako mu Yerusaalemu. “Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza? Laba ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa. Era mbagamba nti temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ” Awo olwatuuka, Yesu bwe yayingira ku Sabbaato mu nnyumba y'omu ku bakulembeze b'Abafarisaayo okulya emmere, bo ne bamwekaliriza amaaso. Omuntu omulwadde w'entumbi yali awo mu maaso ga Yesu. Yesu n'agamba abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato, oba nedda?” Naye bo ne basirika. Awo Yesu n'amukwatako, n'amuwonya, n'amusiibula. N'agamba nti: “Ani ku mmwe, endogoyi ye oba ente ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangwago ku lunaku lwa Sabbaato?” Ne batayinza kino kukiddamu. Yesu bwe yalaba abayitiddwa ku mbaga nga beeroboza ebifo ebisinga okuba ebyekitiibwa, n'abagerera olugero, n'abagamba nti: “Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo ekisinga okuba ekyekitiibwa, sikulwa nga wabaawo omulala akusinga ekitiibwa ayitiddwa, oli eyabayise mwembi, n'ajja n'akugamba nti: ‘Viira ono mu kifo,’ olwo n'ogenda okutuula mu kifo ekisembayo, ng'oswadde. Naye bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo ekisembayo, oli eyakuyise bw'ajja, alyoke akugambe nti: ‘Munnange, sembera eno waggulu,’ olwo olissibwamu ekitiibwa mu maaso ga bonna b'otudde nabo okulya. Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza, aligulumizibwa.” Ate n'agamba n'oyo eyamuyita nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo oba baganda bo, oba ab'ekika kyo, oba baliraanwa bo abagagga, si kulwa nga nabo bakuyita, n'osasulwa. Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, bakateeyamba, balema, bamuzibe. Olwo oliba n'omukisa, kubanga tebalina kya kukusasula. Katonda alikusasula ng'abalungi bazuukidde.” Awo omu ku baali batudde awamu okulya bwe yawulira ebyo, n'agamba nti: “Wa mukisa oyo alirya emmere mu Bwakabaka bwa Katonda!” Yesu n'amugamba nti: “Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene, n'ayita bangi. Obudde obw'embaga bwe bwatuuka, n'atuma omuddu we okugamba abayitiddwa nti: ‘Mujje, kubanga byonna bimaze okutegekebwa.’ Naye bonna, nga bali ng'abaalagaanye, ne batandika okwewolereza. Eyasooka yagamba nti: ‘Naguze ekibanja, nteekwa okugenda okukirambula. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’ Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigogo gy'ente etaano, era ŋŋenda kugigeza. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’ N'omulala n'agamba nti: ‘Nawasizza omukazi, n'olwekyo siyinza kujja.’ “Awo omuddu n'addayo, bino n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyinimu n'asunguwala, n'agamba omuddu we nti: ‘Fuluma mangu, oyiteeyite mu nguudo ne mu buguudo bw'ekibuga, oleete wano abaavu ne bakateeyamba ne bamuzibe n'abalema.’ Omuddu n'agamba nti: ‘Mukama wange, kye walagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ekifo.’ Mukama w'omuddu oyo n'amugamba nti: ‘Fuluma, oyiteeyite mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule. Mbagamba nti ku basajja abo abaabadde bayitiddwa, tewali anaalya ku mbaga yange.’ ” Abantu bangi nnyo baali bagenda ne Yesu, n'abakyukira n'abagamba nti: “Singa omuntu ajja gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina, ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, wadde n'obulamu bwe bwennyini, tayinza kuba muyigirizwa wange. Buli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange. “Kale ani ku mmwe aba ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira ebyetaagibwa, alabe oba ng'alina ebimala? Sikulwa ng'amala okuteekawo omusingi, n'atasobola kumaliriza, bonna abalaba ne batandika okumusekerera nga bagamba nti: ‘Omuntu ono yatandika okuzimba, n'atasobola kumaliriza?’ “Oba kabaka ki aba agenda okulwanyisa kabaka omulala mu lutalo, atasooka kutuula n'alowooza oba ng'ayinza, n'abantu omutwalo ogumu, okusisinkana oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri? Bw'aba nga tayinza, atuma ababaka ng'oli akyali wala, n'asaba batabagane. Kale bwe kityo buli omu ku mmwe ateefiiriza byonna by'alina, tayinza kuba muyigirizwa wange. “Omunnyo gwa mugaso, naye singa omunnyo gusaabulukuka, gunazzibwamu gutya obuka bwagwo? Guba tegukyagasa mu ttaka, wadde awateekebwa ebigimusa, bagusuula busuuzi. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.” Awo abasolooza b'omusolo bonna n'aboonoonyi ne basemberera Yesu okumuwuliriza. Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi era alya nabo.” Awo Yesu n'abagerera olugero luno nti: “Muntu ki ku mmwe aba n'endiga ekikumi, n'abulwako emu ku zo, ataleka ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agenda okunoonya eri ebuze, okutuusa lw'agizuula? Era ng'agizudde, agiteeka ku kibegabega kye ng'asanyuka. Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange ebadde ebuze.’ Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu lingi mu ggulu olw'omwonoonyi omu eyeenenya, okusinga olw'abalungi ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya. “Oba mukazi ki aba n'ebisente kkumi ebya ffeeza, singa abulwako ekimu, atakoleeza ttaala, n'ayera ennyumba, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'akizuula? Era ng'akizudde, ayita baliraanwa be, n'agamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde ekisente kyange ekya ffeeza ekibadde kibuze.’ Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu mu bamalayika ba Katonda olw'omwonoonyi omu eyeenenya.” Yesu n'agamba nate nti: “Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri. Omuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, mpa omugabo ogwange ku bintu byo.’ Awo n'abagabanyiza mu bintu bye. Ennaku tewaayitawo nnyingi, omwana omuto ku bombi n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'agenda mu nsi ey'ewala, n'asaasaanyiza eyo ebintu bye, ng'ayisa empisa embi. Awo bwe yabimalaawo byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo, n'atandika okuba mu buzibu. N'agenda ne yeesiba ku omu ku bannansi b'omu kitundu ekyo, ye n'amusindika mu kibanja kye okulunda embizzi. Ne yeegombanga okukkusa olubuto lwe ebikuta, embizzi bye zaalyanga, ne wataba abimuwa. Kyokka bwe yeerowooza, n'agamba nti: ‘Abapakasi ba kitange bameka abalya emmere n'ebalemerawo, naye nze nfiira wano enjala! Nja kusituka ŋŋende eri kitange, mmugambe nti kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo. Nfuula ng'omu ku bapakasi bo.’ N'asituka, n'agenda eri kitaawe. “Bwe yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera. Omwana n'agamba nti: ‘Kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo!’ Kyokka kitaawe n'agamba abaddu be nti: ‘Mwanguwe, muleete ekyambalo ekisinga obulungi, mukimwambaze, era mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere. Muleete n'ennyana eyassava, mugitte, tulye tusanyuke, kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ Awo ne batandika okusanyuka. “Omwana we omukulu yali mu nnimiro. Bwe yali ajja, era ng'asemberedde ennyumba, n'awulira ekinyumu nga bayimba era nga bazina. N'ayita omu ku baddu, n'abuuza ekiriwo. Omuddu n'amugamba nti: ‘Muganda wo azze, kitaawo n'atta ennyana eyassava, kubanga amwanirizza nga mulamu.’ “Ye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira. Awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira. Naye ye n'addamu kitaawe nti: ‘Laba, emyaka mingi gye mmaze nga nkukolera, era sijeemerangako kiragiro kyo. Naye tompanga wadde akabuzi, nsanyukeko ne mikwano gyange. Naye omwana wo ono, eyalya ebintu byo ng'ali ne bamalaaya, bw'azze, omuttidde ennyana eyassava!’ Kitaawe n'amugamba nti: ‘Mwana wange, ggwe bulijjo oli wamu nange, era ebyange bye bibyo. Naye kibadde kituufu okujaguza n'okusanyuka, kubanga muganda wo ono, yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ ” Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we. Oyo ne bamumuloopera nti asaasaanyizza ebintu bye. Awo n'amuyita n'amugamba nti: ‘Kino kye nkuwuliddeko kiri kitya? Nnyonnyola ebifa ku buwanika bwo, kubanga tokyayinza kusigala ng'oli muwanika.’ Omuwanika ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika? Sirina maanyi ga kulima, ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza. Kati mmanyi kye nnaakola, balyoke bannyanirize mu nnyumba zaabwe nga ngobeddwa ku buwanika.’ “Awo n'ayita buli alina ebbanja lya mukama we. N'agamba eyasooka nti: ‘Mukama wange akubanja ki?’ N'addamu nti: ‘Endebe z'omuzigo ebikumi bibiri.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa. Tuula mangu, owandiike kikumi.’ Olwo n'agamba omulala nti: ‘Ate ggwe obanjibwa ki?’ N'addamu nti ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa, owandiike kinaana.’ “Awo omuwanika ono omukumpanya n'atendebwa mukama we olw'amagezi ge yasala. Abantu ab'ensi bagezigezi okusinga abantu ab'ekitangaala, mu nkolagana yaabwe. Mbagamba nti mwefunire emikwano nga mugaba ku bugagga obw'ensi, bwe buliba nga tebukyagasa, mulyoke mwanirizibwe mu maka ag'olubeerera. “Oyo aba omwesigwa ku kitono, aba mwesigwa ne ku kinene; n'oyo ataba mwesigwa ku kitono, taba mwesigwa ne ku kinene. Kale bwe mutaba beesigwa mu bugagga obw'ensi, ani alibateresa obugagga bwennyini? Era bwe mutaba beesigwa ku bya mulala, ebyammwe ani alibibawa? “Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri, kubanga alikyawa omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi.” Awo Abafarisaayo abaali abaagazi b'ebyobugagga, ne bawulira ebyo byonna, ne basekerera Yesu. Ye n'abagamba nti: “Mmwe muli bantu abeefuula abalungi mu maaso g'abantu, kyokka Katonda amanyi emitima gyammwe. Abantu kye bagulumiza, kiba kya muzizo mu maaso ga Katonda. “Amateeka ga Musa n'ebyawandiikibwa abalanzi bye byaliwo okutuusa Yowanne Omubatiza lwe yajja. Naye okuva olwo, Obwakabaka bwa Katonda bwe butegeezebwa abantu ng'Amawulire Amalungi, era buli muntu afuba okubuyingiramu olw'amaanyi. Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga akanukuta akamu okuggyibwa mu mateeka ga Musa. “Buli agoba mukazi we, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze. Era oyo awasa omukazi agobeddwa bba, aba ayenze. “Waaliwo omuntu omugagga, eyayambalanga engoye eza kakobe, n'engoye ezinekaaneka, era eyabeeranga mu bulamu obw'okwejalabya buli lunaku. Waaliwo n'omwavu, erinnya lye Laazaro, eyali ajjudde amabwa, era eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo. Laazaro ono yeegombanga okulya n'okukkuta obukunkumuka bw'emmere obwagwanga, nga buva ku mmeeza y'omugagga. Era embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ge. “Awo olwatuuka, omwavu oyo n'afa, n'atwalibwa bamalayika awali Aburahamu. Omugagga naye n'afa, n'aziikibwa. Ng'ali mu bulumi bungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Aburahamu, n'alengera ne Laazaro awali Aburahamu. Awo n'akoowoola ng'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nkwatirwa ekisa otume Laazaro, annyike akasammambiro k'olunwe lwe mu mazzi, avubirize olulimi lwange, kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’ “Aburahamu n'agamba nti: ‘Mwana wange, jjukira nti ebirungi ebibyo wabifuna ng'okyali mulamu, ye Laazaro n'afuna ebitali birungi. Kaakati ye wano asanyuka, nga ggwe oli mu bulumi obungi. Ate ebyo byonna ng'obitadde ku bbali, waateekebwawo olukonko lunene wakati waffe nammwe, abo abaagala okuva eno okujja gye muli tebayinza, era tewali ayinza kuva eyo okujja gye tuli.’ “Awo omugagga n'agamba nti: ‘Kale nno ssebo, nkwegayiridde, tuma Laazaro mu nnyumba ya kitange, kubanga nninayo baganda bange bataano, agende abalabule, sikulwa nga nabo bajja mu kifo kino eky'obulumi obungi.’ “Aburahamu n'agamba nti: ‘Balina amateeka ga Musa n'abalanzi, bawulirenga abo.’ Omugagga n'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nedda, naye singa wabaawo azuukira n'agenda gye bali, baneenenya.’ Aburahamu n'agamba nti: ‘Oba nga tebawulira Musa na balanzi, tebajja kukkiriza newaakubadde wabaawo azuukira.’ ” Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebisuula abantu mu kibi tebirema kubaawo, kyokka oyo abireeta wa kubonaabona. Kyandimubeeredde kirungi okusibibwa ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga lw'aleetera omu ku bato bano okukola ekibi. Mwerinde. Muganda wo bw'akola ekibi, mulabule era singa yeenenya, musonyiwe. Singa akukola ekibi emirundi musanvu mu lunaku olumu, era buli mulundi n'ajja gy'oli n'agamba nti: ‘Neenenyezza,’ oteekwa okumusonyiwa.” Abatume ne bagamba Mukama waffe nti: “Twongeremu okukkiriza.” Mukama waffe n'addamu nti: “Singa mulina okukkiriza okutono ng'akasigo ka kaladaali, mwandigambye omuti ogw'enkenene guno nti: ‘Simbuka, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira. “Ani ku mmwe aba n'omuddu alima oba alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu nnimiro, amugamba nti: ‘Jjangu otuule olye,’ n'atamugamba nti: ‘Tegeka emmere gye nnaalya ekyeggulo, weesibe ompeereze nga ndya era nga nnywa, oluvannyuma naawe olyoke olye era onywe’? Ateekwa okwebaza omuddu oyo olw'okukola ebimulagiddwa? Nammwe kye kimu. Bwe mumalanga okukola byonna ebibalagiddwa, mugambanga nti: ‘Tuli baddu buddu. Bye tubadde tuteekwa okukola, bye tukoze.’ ” Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'agenda e Yerusaalemu, n'ayita wakati wa Samariya ne Galilaaya. Bwe yali ng'ayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako, ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka, ne bagamba nti: “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa.” Yesu bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Awo bwe baali bagenda, ne balongooka. Omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo ng'atendereza Katonda mu ddoboozi ery'omwanguka. N'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, nga yeebaza. Oyo yali Musamariya. Yesu n'agamba nti: “Abawonyezeddwa tebabadde kkumi? Naye omwenda guli ludda wa? Tewalabiseewo mulala akomyewo kutendereza Katonda okuggyako ono ow'eggwanga eddala?” Awo Yesu n'amugamba nti: “Yimuka ogende. Owonye olw'okukkiriza kwo.” Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafarisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi, n'abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweraga. Abantu tebaligamba nti: ‘Laba, buli wano,’ oba nti: ‘Buli wali,’ kubanga Obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.” Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Ekiseera kirituuka ne mwegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'Omuntu, kyokka temulirulaba. Walibaawo ababagamba nti: ‘Laba, ali wali,’ oba nti: ‘Laba, ali wano.’ Temugendangayo, era temubagobereranga. Ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ku ludda olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oludda olulala, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba bw'atyo ku lunaku lwe. Kyokka ateekwa okusooka okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa ab'omulembe guno. “Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kiseera ky'Omwana w'Omuntu. Abantu baali balya era nga banywa, baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato, omujjuzo ne gujja, ne guzikiriza bonna. Era kiriba nga bwe kyali mu mulembe gwa Looti. Abantu baali balya era nga banywa, baali bagula era nga batunda, baali basiga era nga bazimba. Naye ku lunaku Looti lwe yava mu Sodoma, ne watonnya omuliro n'olunyata okuva mu ggulu, ne bizikiriza bonna. Bwe kityo bwe kiriba ku lunaku Omwana w'Omuntu lw'alirabikirako. “Ku lunaku olwo, omuntu aliba waggulu ku kasolya k'ennyumba, ng'ebintu bye biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu. Oyo aliba mu nnimiro naye bw'atyo, taddanga mabega. Mujjukire muka Looti! Buli agezaako okukuuma obulamu bwe, alibufiirwa; kyokka buli afiirwa obulamu bwe, alibuwonya. Mbagamba nti mu kiro ekyo, abaliba ababiri mu kitanda ekimu, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. [ Babiri abaliba mu nnimiro, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.”] Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti: “Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira.” Awo Yesu n'abagerera olugero, okubalaga nti bateekwa bulijjo okwegayirira Katonda awatali kukoowa. N'agamba nti: “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, ataatyanga Katonda era atassangamu muntu kitiibwa. Waaliwo ne nnamwandu mu kibuga ekyo, eyajjanga ew'omulamuzi oyo, n'agamba nti: ‘Lamula ontaase omulabe wange.’ Omulamuzi n'amala ekiseera ng'akyagaanyi, kyokka oluvannyuma n'agamba mu mutima gwe nti: ‘Newaakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa, naye olw'okubanga nnamwandu ono antawaanya, nja kulamula mmutaase, aleme kujjanga kunkooyesa lutata.’ ” Awo Mukama waffe n'agamba nti: “Muwulire omulamuzi oyo omubi ky'agamba. Kale Katonda talitaasa abalondemu be abamukoowoola emisana n'ekiro? Alirwawo nga tannabayamba? Mbagamba nti alibataasa mangu. Wabula Omwana w'Omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?” Abo abaali beerowoozaako okuba abalungi, nga banyooma abalala, Yesu n'abagerera olugero luno nti: “Abantu babiri baayambuka mu Ssinzizo okusinza. Omu yali Mufarisaayo, omulala musolooza wa musolo. “Omufarisaayo n'ayimirira, n'asinza Katonda mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nkwebaza, kubanga siri nga bantu balala, abanyazi, abakumpanya, abenzi. Era siri ng'omusolooza w'omusolo ono. Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, mpaayo ekitundu ekimu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna.’ Kyokka omusolooza w'omusolo n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge eri eggulu, wabula ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nsaasira nze omwonoonyi!’ Mbagamba nti oyo yaddayo mu nnyumba ye ng'ali bulungi ne Katonda, kyokka si oli, kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.” Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, kyokka abayigirizwa bwe baabalaba, ne babaziyiza nga bababoggolera. Yesu n'ayita abaana abo ng'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gyendi, temubaziyiza, kubanga abafaanana nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda. Mazima mbagamba nti buli muntu ateesiga Katonda ng'omwana omuto bwe yeesiga bakadde be, si wa kubuyingiramu.” Awo omukungu omu n'abuuza Yesu nti: “Muyigiriza omulungi, kiki kye nteekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?” Yesu n'amugamba nti: “Lwaki ompise omulungi? Tewali mulungi okuggyako Katonda yekka. Ebiragiro obimanyi: toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” Omukungu n'agamba nti: “Bino byonna nabituukiriza okuviira ddala mu buto n'okutuusa kati.” Yesu bwe yawulira ekyo, n'amugamba nti: “Ekintu kimu ekikyakubulako okukola: tunda byonna by'olina, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.” Kyokka omukungu bwe yawulira ebyo, n'anakuwala, kubanga yali mugagga nnyo. Yesu bwe yalaba omukungu ono ng'anakuwadde, n'agamba nti: “Nga kizibu abagagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda! Kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.” Abaawulira ebyo ne bagamba nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?” Yesu n'agamba nti: “Abantu bye batayinza, Katonda abiyinza.” Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe tuyitenga naawe.” Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti buli eyaleka ennyumba ye oba mukazi we, oba baganda be, oba bazadde be, oba baana be olw'Obwakabaka bwa Katonda, alifuna ebisingawo obungi mu mulembe guno, n'obulamu obutaggwaawo mu mulembe ogulijja.” Awo Yesu n'azza abayigirizwa be ku bbali, n'abagamba nti: “Laba twambuka e Yerusaalemu, era byonna ebyawandiikibwa abalanzi nga bifa ku Mwana w'Omuntu bijja kutuukirira: ajja kuweebwayo mu b'amawanga amalala, abajja okumusekerera, bamuvume, bamuwandire amalusu, bamukubise embooko eziriko amalobo agasuna. Era bajja kumutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.” Abayigirizwa be tebaalina wadde ekimu kye baategeera ku ebyo. Amakulu g'ebigambo ebyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera ky'abagambye. Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'asemberedde ekibuga Yeriko, muzibe yali atudde ku mabbali g'ekkubo ng'asabiriza. Bwe yawulira ekibiina ky'abantu nga kiyitawo, n'abuuza nti: “Kiki ekyo?” Ne bamubuulira nti Yesu Omunazaareeti ye ayitawo. Awo n'aleekaana nti: “Yesu, Omuzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!” Abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye n'ayongera bwongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!” Awo Yesu n'ayimirira, n'alagira muzibe okuleetebwa w'ali. Muzibe bwe yasembera, Yesu n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki?” N'addamu nti: “Mukama wange, nsaba nzibuke amaaso.” Yesu n'amugamba nti: “Zibula, owonye olw'okukkiriza kwo.” Amangwago n'azibuka amaaso, n'agenda ne Yesu ng'agulumiza Katonda. Abantu bonna bwe baalaba kino, ne batendereza Katonda. Awo Yesu n'ayingira mu kibuga Yeriko, n'atambula n'akiyitamu. Waaliwo omusajja erinnya lye Zaakayo eyali omukulu w'abasolooza b'omusolo era nga mugagga. N'agezaako okulaba Yesu bw'afaanana, n'atasobola olw'ekibiina ky'abantu, kubanga Zaakayo ono yali mumpi. N'adduka, n'abeesooka mu maaso, n'alinnya omuti Omusikamoreya, alabe Yesu eyali agenda okuyita mu kkubo eryo. Yesu bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'atunula waggulu, n'amugamba nti: “Zaakayo, kka mangu, kubanga olwaleero nteekwa okuba omugenyi wo.” Zaakayo n'akka mangu, n'ayaniriza Yesu n'essanyu. Bonna bwe baalaba, ne beemulugunya, ne bagamba nti: “Agenze okukyala ew'omusajja omwonoonyi.” Zaakayo n'ayimirira, n'agamba Mukama waffe nti: “Mukama wange, laba, nnaagabanyiza wakati ebintu byange, ekitundu ekimu nkiwe abaavu. Era oba nga waliwo gwe nalyazaamaanya, nnaamuliyira emirundi ena.” Awo Yesu n'amugamba nti: “Olwaleero okulokoka kuzze mu nnyumba eno, kubanga ono naye muzzukulu wa Aburahamu. Omwana w'Omuntu yajja okunoonya n'okulokola abaabula.” Awo bwe baawulira ebyo, Yesu n'ayongera okubagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemu, era kubanga baali balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bwa kulabika mangwago. Kyeyava agamba nti: “Waaliwo omuntu oweekitiibwa eyagenda mu nsi ey'ewala okufuulibwa kabaka, alyoke akomewo. N'ayita abaddu be kkumi, n'abawa ensimbi eziwera mina kkumi, n'abagamba nti: ‘Musuubuze ensimbi zino okutuusa lwe ndidda.’ Kyokka ab'omu nsi ye baali bamukyaye. Ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti: ‘Tetwagala oyo kufuuka kabaka waffe.’ “Awo olwatuuka, bwe yakomawo ng'amaze okufuulibwa kabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, amanye bwe baasuubula. Eyasooka n'ajja n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina kkumi.’ N'amugamba nti: ‘Weebale ggwe, omuddu omulungi. Nga bwe wali omwesigwa mu kintu ekitono, nnaakuwa obuyinza okufuga ebibuga kkumi.’ Owookubiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina ttaano.’ N'oyo n'amugamba nti: ‘Naawe ojja kufuga ebibuga bitaano.’ “N'omulala n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, laba, ensimbi zo ze wampa, mina emu, ziizino. Nazitereka mu kiwero, kubanga nakutya, kubanga oli muntu mukakanyavu. Otwala ekitali kikyo, era okungula ky'otaasiga.’ Kabaka n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, by'oyogedde kwe nnaasinziira okukusalira omusango. Wali omanyi nti ndi muntu mukakanyavu, atwala ekitali kyange, era akungula kye ssaasiga. Kale lwaki ensimbi zange tewaziteresa basuubuzi, nze nga nkomyewo ne nzifuna n'amagoba gaazo?’ “N'agamba abaali bayimiridde awo nti: ‘Mumuggyeeko ensimbi z'alina, mina emu, muziwe oli alina mina ekkumi.’ Ne bamugamba nti: ‘Ssebo, alina mina kkumi ddamba!’ N'addamu nti: ‘Mbagamba nti buli alina ebingi alyongerwako n'ebirala, ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako. Naye abalabe bange abo, abataayagala nze kufuuka kabaka waabwe, mubaleete wano, era mubatte nga ndaba.’ ” Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akulemberamu, ng'ayambuka e Yerusaalemu. Awo olwatuuka, bwe yali ng'asemberedde ebibuga Betufaage ne Betaniya, okumpi n'olusozi oluyitibwa olw'emiti Emizayiti, n'atuma babiri ku bayigirizwa be ng'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugiyimbule mugireete. Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki mugisumulula?’ Muddamu bwe muti: ‘Mukama waffe agyetaaga.’ ” Awo abaatumibwa ne bagenda, ne basanga byonna nga biri nga bwe yabagamba. Bwe baali nga basumulula endogoyi, bannannyiniyo ne babagamba nti: “Lwaki endogoyi mugisumulula?” Bo ne bagamba nti: “Mukama waffe agyetaaga.” Awo ne bagitwalira Yesu. Ne bassa ku ndogoyi eyo ekkooti zaabwe, ne bagyebagazaako Yesu. Bwe yali ng'agenda, abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe. Ate bwe yali ng'asemberedde Yerusaalemu, ng'aserengeta Olusozi olw'emiti Emizayiti, ekibiina ky'abayigirizwa be kyonna ne kitendereza Katonda n'eddoboozi ery'omwanguka nga kisanyuka olw'ebyamagero byonna bye kyali kirabye. Ne kigamba nti: “Kabaka ono ajja mu linnya lya Mukama, atenderezebwe. Emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe eri Katonda Atenkanika.” Awo abamu ku Bafarisaayo abaali mu kibiina ky'abantu ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.” Yesu n'addamu nti: “Mbagamba nti singa bano basirika, amayinja ganaaleekaana.” Awo Yesu n'atuuka kumpi n'ekibuga Yerusaalemu. Bwe yakiraba, n'akaaba olw'okukirumirwa, nga bw'agamba nti: “Singa ggwe omanya wadde ku lunaku luno ebyo ebireeta emirembe! Naye kaakano bikwekeddwa amaaso go. Ekiseera kirikutuukirira, abalabe bo ne bakuzimbako ekigo okukwetooloola, ne bakutaayiza. Balikuzingiza ku njuuyi zonna. Balikusaanyaawo awamu n'abantu bo abalisangibwa mu ggwe. Era mu ggwe tebalireka jjinja lizimbiddwa ku linnewaalyo, kubanga tewamanya kiseera Katonda kye yajjiramu okukulokola.” Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abaali batundiramu, nga bw'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.” Yesu yayigirizanga buli lunaku mu Ssinzizo. Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, ne basala amagezi okumuzikiriza. Ne batalaba kye banaakola, kubanga abantu bonna omwoyo gwabwe baali bagutadde ku ye, nga bamuwuliriza. Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza abantu, era ng'abategeeza Amawulire Amalungi, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja, ne bamugamba nti: “Tubuulire, olina buyinza bwa ngeri ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza obwo?” Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo. Mumbuulire, ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda oba bantu?” Awo bo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tugamba nti Katonda ye yamutuma, ajja kutubuuza nti lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza? Ate singa tugamba nti abantu be baamutuma, abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bakkiririza ddala nti Yowanne mulanzi.” Awo ne baddamu nti: “Tetumanyi yamutuma.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bintu bino.” Awo Yesu n'agerera abantu olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala, n'alwayo. Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Kyokka abapangisa ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu. N'ayongera okutuma omuddu omulala. N'oyo ne bamukuba ne bamuswazaswaza, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu. N'ayongera okutuma omuddu owookusatu. N'ono ne bamussaako ebiwundu, ne bamusuula ebweru. Awo nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba nti: ‘Kiki kye nnaakola? Nja kutuma omwana wange omwagalwa, mpozzi ye banaamussaamu ekitiibwa.’ Kyokka abapangisa bwe baamulaba, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika. Tumutte, obusika bube bwaffe.’ Awo ne bamufulumya ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta. Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu alibakola atya? Alijja n'azikiriza abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala.” Bwe baawulira ebyo ne bagamba nti: “Ekyo kireme kubaawo!” Kyokka Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Kale kino ekyawandiikibwa kitegeeza ki? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’ Buli agwa ku jjinja eryo, alimenyekamenyeka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.” Awo abannyonnyozi b'amateeka ne bakabona abakulu ne bagezaako okukwata Yesu mu kaseera ako, kubanga baamanya nti olugero olwo yalugera nga lukwata ku bo, kyokka ne batya abantu. Bwe baali bakyalindirira akaseera akalala, ne batuma abakessi beefuule ng'abantu abalungi, bamukwase mu bigambo by'anaayogera, balyoke bamuweeyo eri omufuzi Omurooma. Abakessi bano ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nti by'oyogera ne by'oyigiriza bituufu, era tososola mu bantu, naye abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Kaakati ssebo, tubuulire: tukkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tetukkirizibwa?” Kyokka Yesu n'ategeera olukwe lwabwe, n'abagamba nti: “Mundage essente. Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne bagamba nti: “Bya Kayisaari.” Yesu n'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.” Ne batasobola kumukwasa mu kintu na kimu kye yayogera mu maaso g'abantu. Ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika. Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa, n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’ Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana. N'owookubiri n'awasa nnamwandu oyo. Era n'owookusatu bw'atyo. Bonna omusanvu baamuwasa, ne bafa nga tebalese mwana. Oluvannyuma, omukazi naye n'afa. Kale ku lunaku olw'okuzuukira, omukazi oyo aliba muk'ani, nga bonna omusanvu baamuwasa?” Awo Yesu n'abagamba nti: “Abantu ab'oku nsi bawasa era bafumbirwa. Naye abo abalisaanyizibwa okuba mu mulembe ogwo, n'okuzuukira mu bafu, baliba tebakyawasa era nga tebakyafumbirwa, “kubanga baliba tebakyayinza kufa nate. Baliba nga bamalayika, era baliba baana ba Katonda olw'okuba baliba bazuukidde. Ne Musa alaga nti abafu bazuukira, kubanga mu kitundu ekifa ku kisaka, ayogera ku Mukama nti Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo. Katonda si wa bafu wabula wa balamu, kubanga bonna eri Katonda balamu.” Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ne baddamu nti: “Muyigiriza, oyogedde bulungi.” Baayogera batyo kubanga tewaali yaguma kwongera kumubuuza bibuuzo. Awo Yesu n'abagamba nti: “Bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi? Dawudi yennyini mu kitabo kya Zabbuli, agamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti tuula ng'onninaanye, ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’ Oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?” Abantu bonna nga bawulira, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwekuume abannyonnyozi b'amateeka abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu ezikweya, era abaagala okulamusibwa mu butale, n'okutuula mu bifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro, ne mu bifo ebyekitiibwa ku mbaga, era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.” Awo Yesu n'ayimusa amaaso n'alaba abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu kifo omuteekebwa ebirabo mu Ssinzizo. N'alaba ne nnamwandu omwavu lunkupe ng'ateekamu bussente bubiri, obusembayo okuba obw'omuwendo omutono ddala. N'agamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu ono omwavu ataddemu kinene nnyo okusinga abalala bonna, kubanga bo abalala bonna batodde ku bingi bye balina ne bateeka mu birabo, kyokka ono omwavu ataddemu kyonna ky'abadde alina ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.” Awo abamu bwe baali boogera ku Ssinzizo nga bwe lyazimbibwa n'amayinja amalungi, era nga bwe lyatimbibwa n'ebirabo ebirirabisa obulungi, Yesu n'agamba nti: “Bino bye mulaba, ekiseera kirituuka, lwe wataliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.” Awo ne babuuza Yesu nti: “Muyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti binaatera okubaawo?” Yesu n'agamba nti: “Mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa; kubanga bangi balijja nga beeyita nze, era nga bagamba nti: ‘Ekiseera ekirindirirwa kituuse.’ Temubagobereranga. Bwe muwuliranga entalo n'obwegugungo, temutyanga. Ebyo biteekwa okusooka okubaawo, naye enkomerero terituuka mangwago.” Olwo n'agamba nti: “Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjala ne kawumpuli mu bitundu bingi. Era walibaawo eby'entiisa n'ebyamagero ennyo ebiriva mu ggulu. Naye byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, ne babawaayo okuwozesebwa mu makuŋŋaaniro, n'okusibibwa mu makomera. Mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka n'ag'abaami olw'erinnya lyange. Kino kiribaviiramu okutuusa ku bantu Amawulire Amalungi. Kale mumalirire obuteeraliikirira kya kuwoza. Nze ndibawa ebigambo n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakanya wadde okugaana. Muliweebwayo bazadde bammwe ne baganda bammwe, n'ab'ekika kyammwe, ne mikwano gyammwe. Era abamu ku mmwe balittibwa. Abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Naye newaakubadde olumu ku nviiri zammwe terulizikirira. Olw'okugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu. “Bwe muliraba Yerusaalemu nga kyetooloddwa eggye, olwo nga mumanya nti okuzikirira kwakyo kuli kumpi. Olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi, abo abalikibaamu bakivangamu, era abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu. Ennaku ezo za kuwoolera ggwanga, okutuukiriza byonna ebyawandiikibwa. Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo, nga balibonaabona nnyo! Walibaawo okubonaabona kungi mu ggwanga, n'obusungu bwa Katonda ku bantu b'eggwanga lino. Balittibwa n'ebitala ebyogi, balitwalibwa mu mawanga gonna nga basibe, era Yerusaalemu kiririnnyirirwa ab'amawanga amalala, okutuusa ebiseera by'amawanga amalala lwe biriggwaako. “Walibaawo ebyamagero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye. Ku nsi amawanga galyeraliikirira nga gatya olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo. Abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebigenda okubaawo ku nsi, kubanga eby'amaanyi mu bwengula bw'ebbanga birinyeenyezebwa. Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu kire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa kinene. Naye ebyo bwe biritandika okubaawo, musituke era muyimuse emitwe gyammwe, kubanga okununulwa kwammwe kuli kumpi.” Awo Yesu n'abagerera olugero nti: “Mulabire ku muti omutiini, oba ku muti omulala gwonna. Bwe mulaba nga gutandise okuddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya buli kumpi. Mu ngeri y'emu, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. Mazima mbagamba nti ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo. Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo. “Mwekuume, emitima gyammwe gireme okwemaliranga mu buluvu, ne mu kutamiira, ne mu kweraliikirira eby'obulamu buno, sikulwa ng'olunaku luli lubatuukako nga temwetegese, kubanga lulituuka ku bantu bonna abali ku nsi, ng'omutego bwe gukwasa ekintu. Kale nno mutunule nga mwegayirira Katonda ekiseera kyonna, mulyoke musobole okuyita mu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole okulabika mu maaso g'Omwana w'Omuntu.” Emisana Yesu yabeeranga mu Ssinzizo ng'ayigiriza, obudde bwe bwazibanga n'afuluma, n'amala ekiro ku Lusozi oluyitibwa olw'Emiti Emizayiti. Abantu bonna baakeeranga ku makya ne bagenda gy'ali mu Ssinzizo okumuwuliriza. Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, eyitibwa Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, yali eneetera okutuuka. Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka ne bagezaako okutta Yesu, kyokka mu magezi, kubanga baali batya abantu. Sitaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri. Awo Yuda oyo n'agenda n'ateesa ne bakabona abakulu, n'abakulu b'abakuumi b'Ennyumba ya Katonda, nga bw'anaawaayo Yesu gye bali. Ne basanyuka, era ne balagaana okumuwa ensimbi. N'akkiriza, era n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu gye bali, ng'ekibiina ky'abantu tekiriiwo. Awo olunaku olw'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, oluteekwa okuttirwako endiga entoototo ey'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne lutuuka. Yesu n'atuma Peetero ne Yowanne, n'agamba nti: “Mugende mututegekere Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, tugirye.” Bo ne bamubuuza nti: “Oyagala tutegeke wa?” N'abagamba nti: “Laba, bwe munaaba nga muyingira mu kibuga, munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi, mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira, era mugambe nnannyini nnyumba nti: ‘Omuyigiriza akubuuza nti ekisenge kiruwa, ye n'abayigirizwa be mwe banaaliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?’ Ye anaabalaga ekisenge ekinene ekiri waggulu, ekiwedde okwaliirwa, mutegeke omwo.” Awo ne bagenda, ne basanga nga byonna biri nga Yesu bwe yabagamba, ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Awo essaawa bwe yatuuka, Yesu n'atuula okulya awamu n'abatume be. N'abagamba nti: “Njagadde nnyo okulya awamu nammwe Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako, nga sinnaba kubonaabona. Mbagamba nti siryongera kugirya, okutuusa lw'erituukirizibwa mu Bwakabaka bwa Katonda.” Awo n'akwata ekikopo, ne yeebaza Katonda, era n'agamba nti: “Mukwate kino mugabane mwenna, kubanga, mbagamba nti okuva kati sijja kwongera kunywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.” Awo n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'abawa ng'agamba nti: Kino mubiri gwange [oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga kino okunzijukira.” Ekyekiro bwe kyaggwa, n'abawa n'ekikopo mu ngeri ye emu, ng'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda n'ekakasibwa n'omusaayi gwange oguyiibwa ku lwammwe.] “Naye, laba, oyo agenda okundyamu olukwe ali nange ku lujjuliro. Ddala Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyategekebwa, kyokka omuntu oyo ajja okumulyamu olukwe, nga wa kubonaabona!” Awo bo ne beebuuzaganya ani ku bo agenda okukola ekyo. Olwo ne wabaawo empaka mu bayigirizwa nti ani ku bo alowoozebwa nti ye asinga okuba oweekitiibwa. Yesu n'abagamba nti: “Bakabaka b'amawanga bafugisa bukambwe, era abo ababa n'obuyinza ku bantu, beeyita bayambi baabwe. Naye mmwe si bwe mutyo, wabula asinga okuba oweekitiibwa mu mmwe, abe ng'asembayo era omukulembeze abe ng'omuweereza. Kale asinga okuba oweekitiibwa ye aluwa? Oyo atudde okulya, oba oyo aweereza? Si oyo atudde okulya? Naye nze mu mmwe ndi ng'omuweereza. “Mmwe bantu abasigadde nange mu bizibu byange. Nange mbateekerateekera Obwakabaka nga Kitange bwe yateekerateekera nze, mulyoke muliire era munywere ku mmeeza yange mu Bwakabaka bwange. Era mulituula ku ntebe ezeekitiibwa ne musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.” Awo Yesu n'agamba nti: “Simooni, Simooni, Sitaani asabye akkirizibwe okubawewa mmwe ng'eŋŋaano. Naye nze nkusabidde ggwe, okukkiriza kwo kuleme kuggwaawo. Era ggwe bw'olimala okwenenya, onywezanga baganda bo.” Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, neetegese okugenda naawe mu kkomera. Era neetegese okufa naawe.” Yesu n'agamba nti: “Peetero, nkugamba nti olwaleero, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu nti tommanyi.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Bwe nabatuma nga temututte nsawo ziterekebwamu nsimbi, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, wadde engatto, waaliwo kye mwetaaga ne mutakifuna?” Ne baddamu nti: “Tewaali.” N'abagamba nti: “Naye kaakano oyo alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n'oyo alina ensawo ng'ey'abasabiriza naye akole bw'atyo. Era atalina kitala, atunde ekkooti ye akigule, kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa nti: ‘Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka,’ kiteekwa okutuukirizibwa ku nze. Ebyo ebifa ku nze biteekwa okutuukirizibwa.” Abayigirizwa ne bagamba nti: “Mukama waffe, laba, waliwo ebitala bibiri wano.” Ye n'abagamba nti: “Kimala!” Awo Yesu n'afuluma, n'alaga ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, nga bwe yali amanyidde okukola. Abayigirizwa be nabo ne bagenda naye. Bwe yatuukayo, n'abagamba nti: “Mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa.” Awo ye n'abaawukanako ebbanga ng'ery'ejjinja erikasukibwa we likoma, n'afukamira ne yeegayirira Katonda. N'agamba nti: “Kitange, bw'oyagala, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona, naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.” [ Awo malayika n'ava mu ggulu n'amulabikira, n'amugumya. Ng'ali mu bulumi bungi, ne yeeyongera okwegayirira ennyo Katonda, era entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi nga gatonnya wansi.] Awo bwe yasituka ng'ava okwegayirira Katonda, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'okunakuwala. N'abagamba nti: “Lwaki mwebaka? Mugolokoke, mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa.” Yesu yali akyayogera, ekibiina ky'abantu ne kijja, nga kikulembeddwa oyo ayitibwa Yuda omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'asemberera Yesu okumunywegera. Kyokka Yesu n'amugamba nti: “Yuda, olyamu Omwana w'Omuntu olukwe ng'omunywegera?” Abayigirizwa abaali beetoolodde Yesu bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, tuteme n'ebitala?” Awo omu ku bo n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu okwa ddyo. Kyokka Yesu n'agamba nti: “Mukome ku ekyo!” N'akwata ku kutu kw'omuddu oyo, n'amuwonya. Awo Yesu n'agamba bakabona abakulu n'abakuumi b'Essinzizo, n'abantu abakulu mu ggwanga abajja okumukwata, nti: “Muzze nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo, ne mutankwata. Naye kino kye kiseera kyammwe, era kye kiseera ky'obuyinza bw'ekizikiza.” Awo ne bakwata Yesu, ne bamutwala mu nnyumba ya Ssaabakabona, Peetero n'agoberera nga yeesuddeko ebbanga. Bwe baamala okukuma omuliro mu luggya wakati, ne batuula wamu. Peetero n'atuula wamu nabo. Awo omuzaana omu bwe yamulaba ng'atudde mu kitangaala eky'omuliro, n'amwekkaanya, n'agamba nti: “N'ono yali ne Yesu.” Kyokka Peetero ne yeegaana nti: “Mukazi ggwe, omuntu oyo simumanyi.” Era nga wayiseewo akaseera, omuntu omulala n'amulaba, n'agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, si bwe kiri!” Ate nga wayiseewo ekiseera kya ssaawa nga emu, omuntu omulala n'akakasa ng'agamba nti: “Ddala n'ono yali wamu ne Yesu, kubanga naye Mugalilaaya.” Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, simanyi ky'ogamba!” Amangwago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima. Mukama waffe n'akyuka n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, nga bwe yali amugambye nti: “Olwaleero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'afuluma wabweru, n'akaaba nnyo. Awo abasajja abaali bakuuma Yesu nga musibe, ne bamukudaalira nga bwe bamukuba. Ne bamubikka ku maaso, ne bamubuuza nti: “Tulage, ani akukubye?” Ne bamwogerako n'ebirala bingi ebivuma. Awo obudde bwe bwakya, abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaana, ne baleeta Yesu mu lukiiko lwabwe. Ne bagamba nti: “Tubuulire oba nga ggwe Kristo.” N'abagamba nti: “Ne bwe nnaababuulira, temujja kukkiriza, era ne bwe nnaababuuza, temujja kuddamu. Naye okuva kati, Omwana w'Omuntu agenda kutuula ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza.” Bonna ne bagamba nti: “Kwe kugamba, ggwe oli Mwana wa Katonda?” Ye n'abagamba nti: “Nga bwe mugambye, nze wuuyo.” Ne bagamba nti: “Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Ffe ffennyini tuwulidde ebigambo by'ayogedde.” Awo bonna abaali mu lukiiko ne basituka, ne batwala Yesu eri Pilaato. Ne batandika okumuwawaabira nga bagamba nti: “Ono twamusanga atabulatabula abantu b'eggwanga lyaffe, era ng'abagaana okuwa Kayisaari omusolo, era nga yeeyita Kristo, Kabaka.” Pilaato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'ogambye.” Awo Pilaato n'agamba bakabona abakulu n'ekibiina ky'abantu nti: “Sizudde musango ku muntu ono.” Naye bo ne balumiriza nga bagamba nti: “Asasamaza abantu ng'ayigiriza. Yatandikira Galilaaya, n'ayita mu Buyudaaya bwonna okutuuka wano.” Awo Pilaato bwe yawulira ebyo, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugalilaaya. Bwe yamanya nti Yesu ava mu kitundu ekifugibwa Herode, n'amuweereza ewa Herode, era naye eyali mu Yerusaalemu mu nnaku ezo. Herode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo, kubanga yali awulidde ebimufaako, era okuva edda yayagalanga okumulaba, era ng'asuubira okulaba bw'akola ekyamagero. N'abuuza Yesu ebibuuzo bingi, kyokka Yesu n'atamuddamu n'akatono. Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka ne beesimbawo nga bamulumiriza n'obusungu. Awo Herode n'abaserikale be ne bamunyooma, ne bamukudaalira, ne bamwambaza olugoye olunekaaneka, ne bamuddiza Pilaato. Herode ne Pilaato abaali bakyawaganye nga kino tekinnabaawo, ne bafuuka ba mukwano ku lunaku olwo. Awo Pilaato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'ekibiina ky'abantu, n'abagamba nti: “Mwaleese omuntu ono gye ndi nga mugamba nti atabulatabula abantu. Laba, mmubuuzizza mu maaso gammwe, ne sizuula musango ku muntu ono mu ebyo bye mumuwawaabira. Era ne Herode bw'atyo, kubanga amuzzizza gye tuli. Omuntu ono tewali kye yakola kimusaanyiza kusalirwa gwa kufa. Kale nga mmaze okumubonereza, nnaamuta.” [ Ku buli Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Pilaato yateekwanga okuta omusibe gwe baamusabanga.] Ekibiina ky'abantu kyonna ne kireekaanira wamu nti: “Ono muzikirize, otuteere Barabba!” Barabba oyo yali asibiddwa mu kkomera olw'akajagalalo akaaliwo mu kibuga, n'olw'obutemu. Pilaato n'ayogera nabo nate ng'ayagala okuta Yesu. Naye bo ne baleekaana nga bagamba nti: “Mukomerere ku musaalaba, mukomerere ku musaalaba!” Awo Pilaato n'abagamba omulundi ogwokusatu nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze? Sizudde nsonga ku ye emusaliza gwa kufa. Kale nga mmaze okumubonereza, nnaamuta.” Kyokka bo ne beeyongera okuleekaana ennyo nga basaba nti Yesu akomererwe ku musaalaba. Pilaato n'asalawo nti kye basabye kikolebwe. Awo n'ata oyo gwe baamusaba, eyali aggaliddwa mu kkomera olw'akajagalalo n'obutemu. N'awaayo Yesu nga bwe baagala. Awo abaserikale bwe baali batwala Yesu, ne bakwata Simooni Omukireene, eyali ava mu kyalo, ne bamussaako omusaalaba okugwetikka ng'avaako Yesu emabega. Ekibiina ky'abantu kinene ne kigoberera Yesu. Mu kibiina ekyo, abakazi ne bagenda nga bakungubaga era nga bakaaba olwa Yesu. Kyokka Yesu n'abakyukira n'agamba nti: “Abakazi, ab'e Yerusaalemu, muleke kukaabira nze, naye mwekaabire mwennyini, era mukaabire baana bammwe, kubanga ennaku zirituuka, abantu ze baligambiramu nti abakazi abagumba ba mukisa, era embuto ezitazaalangako n'amabeere agatayonsanga, nabyo bya mukisa. Olwo baligamba ensozi nti: ‘Mutubuutikire,’ n'obusozi nti: ‘Mutuvuunikire.’ Ggwe ate we bakolera bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?” Waaliwo abalala babiri, abamenyi b'amateeka, abaatwalibwa okuttibwa awamu ne Yesu. Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa eky'Ekiwanga, ne bakomerera awo Yesu ku musaalaba n'abamenyi b'amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono. Yesu n'agamba nti: “Kitange, basonyiwe, kubanga tebategeera kye bakola.” Awo ne bagabana engoye ze nga bazikubira akalulu. Abantu ne bayimirira awo nga batunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti: “Yawonyanga balala, yeewonye yennyini, oba ng'ono ye Kristo Omulonde wa Katonda!” Abaserikale nabo ne bajja w'ali, ne bamukudaalira nga bamuwa omwenge omukaatuufu, nga bagamba nti: “Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weewonye!” Era waggulu we waaliwo ekiwandiiko ekiwandiikiddwa nti: “ONO YE KABAKA W'ABAYUDAAYA.” Omu ku bamenyi b'amateeka abaawanikibwa ku musaalaba, n'avuma Yesu ng'agamba nti: “Si ggwe Kristo? Weewonye, naffe otuwonye.” Kyokka oli omulala n'addamu ng'anenya munne, n'agamba nti: “Ggwe, n'okutya totya Katonda nga tuli ku kibonerezo kye kimu? Ku ffe, ggwe nange, kituufu, kubanga twakola ebikolwa ebikitugwanyiza; kyokka ono talina kibi kye yakola.” Awo n'agamba nti: “Yesu, onzijukiranga lw'olijjira mu kitiibwa ky'Obwakabaka bwo.” Yesu n'amugamba nti “Mazima nkugamba nti olwaleero, onooba nange mu kifo eky'okwesiima.” Awo essaawa zaali nga mukaaga ez'emisana, enjuba n'erekayo okwaka era ekizikiza ne kibikka ensi yonna, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo. Olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Kitange, nkukwasa omwoyo gwange!” Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'afa. Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale bwe yalaba ebibaddewo, n'atendereza Katonda nga bw'agamba nti: “Ddala ono abadde muntu mulungi!” Abantu bonna enkumu, abaali bakuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo, ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba. Kyokka mikwano gya Yesu bonna, n'abakazi abajja naye okuva e Galilaaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo. Yosefu ono n'agenda eri Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu, n'aguwanula, n'aguzinga mu lugoye olweru olulungi. N'aguteeka mu ntaana ey'empuku esimiddwa mu lwazi, era eyali teteekebwangamu muntu. Lwali lunaku lwa kweteekateeka, nga Sabbaato eneetera okutandika. Abakazi abajja ne Yesu okuva e Galilaaya, ne bagoberera Yosefu, ne balaba entaana, n'omulambo gwa Yesu nga bwe guteekeddwamu. Ne baddayo ewaabwe, ne bategeka ebyobuwoowo, n'omuzigo ogw'okusiiga. Ku lunaku lwa Sabbaato ne bawummula ng'etteeka bwe liragira. Awo ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, abakazi ne bajja ku ntaana nga baleeta ebyobuwoowo bye baategeka. Ne basanga ng'ejjinja liyiringisiddwa ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana. Ne bayingira, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu. Awo olwatuuka, baali bakyasamaaliridde olw'ekyo, abasajja babiri ne bayimirira kumpi nabo, nga bambadde engoye ezinekaaneka. Abakazi bwe baatya ne bakutama ne batunula wansi ku ttaka, abasajja ne babagamba nti: “Lwaki munoonyeza omulamu mu bafu? Taliiwo wano, azuukidde. Mujjukire nga bwe yababuulira ng'akyali mu Galilaaya, ng'agamba nti: Luk 9:22; 18:31-33 Omwana w'Omuntu ateekwa okuweebwayo mu mikono gy'abantu aboonoonyi, n'okukomererwa ku musaalaba, n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.” Ne bajjukira ebigambo bye, ne bava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira abayigirizwa ekkumi n'omu, n'abalala bonna. Ebyo abaabibuulira abatume, baali Mariya Magudaleena, Yowanna, ne Mariya nnyina Yakobo, n'abalala abaali nabo. Ebigambo ebyo ne bifaananira abatume ng'eby'okugereesa, ne batabikkiriza. Kyokka Peetero n'asituka, n'adduka, n'alaga ku ntaana, n'akutama, n'alaba engoye nga ziri zokka, n'avaayo nga yeewuunya ebibaddewo. Ku lunaku lwe lumu olwo, babiri ku bo baali balaga mu kabuga erinnya lyako Emmaawo, kilomita nga kkumi okuva e Yerusaalemu. Baali banyumya bokka na bokka ku ebyo byonna ebibaddewo. Awo olwatuuka, nga banyumya era nga beebuuzaganya, ne Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo. Kyokka amaaso gaabwe gaaziyizibwa okumwekkaanya, baleme okumutegeera. N'abagamba nti: “Mboozi ki eyo gye munyumya nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu. Omu ku bo, erinnya lye Kulewopa n'amuddamu nti: “Ggwe muntu wekka ali mu Yerusaalemu atamanyi bibaddewo mu nnaku zino?” N'ababuuza nti: “Biki?” Ne bagamba nti: “Ebifa ku Yesu Omunazaareeti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bye yakolanga, ne mu bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna; era nga bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okusalirwa ogw'okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. Ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Yisirayeli. N'ebyo byonna nga biri awo, luno olunaku lwakusatu kasookedde bino bibaawo. Naye ate abakazi abamu ab'ewaffe, abaabadde ku ntaana ku makya ennyo, batuwuniikirizza, bwe batasanzeeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti mulamu. Abamu ku bannaffe baalaze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe baagambye, kyokka ye tebaamulabye.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Basirusiru mmwe, era abalwawo okukkiriza byonna abalanzi bye baayogera! Kristo yali tateekwa kubonyaabonyezebwa ebyo byonna alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” Awo Yesu n'abannyonnyola ebimwogerako mu byawandiikibwa byonna, ng'atandikira ku bya Musa, n'ayongera n'eby'abalanzi bonna. Ne basemberera akabuga gye baali balaga, ye n'aba ng'akyeyongerayo mu maaso. Ne bamwegayirira nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buwungedde, era enjuba emaze okugwa.” N'ayingira okubeera nabo. Awo olwatuuka, bwe yali atudde nabo okulya, n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agubawa. Awo amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bamutegeera, kyokka n'ababulako, nga tebakyamulaba. Ne bagambagana nti: “Emitima tegyatubuguumiridde bwe yabadde ng'ayogera naffe mu kkubo, era ng'atunnyonnyola ebyawandiikibwa?” Ne basituka mu kaseera ako kennyini, ne baddayo e Yerusaalemu, ne basanga abayigirizwa ekkumi n'omu n'abalala abaali nabo, nga bakuŋŋaanye, nga bagamba nti: “Ddala Mukama waffe azuukidde, alabikidde ne Simooni.” Ne bano ne banyumya ebyabaddewo mu kkubo, era nga bwe baamutegeeredde ku kumenyaamenyamu omugaati. Awo baali nga bakyayogera ebyo, Yesu yennyini n'ayimirira wakati waabwe n'agamba nti: “Emirembe gibe nammwe!” Ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu. Awo n'abagamba nti: “Lwaki mweraliikiridde? Era lwaki okubuusabuusa kuno kuzze mu mitima gyammwe? Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange. Nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe, anti omuzimu teguba na mubiri na magumba nga bwe mundaba nga mbirina.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'ebigere bye. Awo nga tebannaba kukkiriza, nga beewuunya olw'essanyu, n'abagamba nti: “Wano mulinawo ekyokulya?” Ne bamuwa ekitundu ky'ekyennyanja ekyokye. N'akitoola, n'akirya nga balaba. N'abagamba nti: “Bino bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyawandiikibwa nga binjogerako mu mateeka ga Musa ne mu bitabo by'abalanzi ne mu Zabbuli, biteekwa okutuukirizibwa.” Olwo n'atangaaza amagezi gaabwe bategeere ebyawandiikibwa, n'abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristo ateekwa okubonaabona n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu, era nti mu linnya lye, obubaka obw'okwenenya n'okusonyiyibwa ebibi buteekwa okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna, okusookera ku Yerusaalemu. Mmwe bajulirwa b'ebyo. Era nze nja kubaweereza ekirabo, Kitange kye yabasuubiza. Naye mubeere mu kibuga, okutuusa lwe mulifuna amaanyi agava mu ggulu.” Awo Yesu n'abatwala ebweru w'ekibuga, n'agenda nabo e Betaniya, n'agolola emikono gye, n'abawa omukisa. Awo olwatuuka, ng'akyabawa omukisa, n'ava we bali, natwalibwa mu ggulu. Ne bamusinza, ne baddayo e Yerusaalemu nga bajjudde essanyu lingi. Ne babeeranga mu Ssinzizo bulijjo, nga batendereza Katonda. Ensi bwe yali nga tennatondebwa, Kigambo nga w'ali. Kigambo yali ne Katonda, era nga ye omu ne Katonda. Okuviira ddala olubereberye, Kigambo yali ne Katonda. Katonda yayita mu ye okutonda ebintu byonna. Tewali kintu na kimu ku bitonde, ekyatondebwa w'atali. Obulamu bwali mu ye, era obulamu obwo ne buleeta ekitangaala mu bantu. Ekitangaala ne kyakira mu kizikiza, ekizikiza ne kitasobola kuwangula kitangaala. Katonda yatuma omuntu, erinnya lye Yowanne, n'ajja okutegeeza abantu ebifa ku kitangaala. Yajja okubategeeza, bonna balyoke bawulire era bakkirize. Yowanne ono si ye yali ekitangaala, wabula yajja ategeeze abantu ebifa ku kitangaala. Ekitangaala kyennyini, ekyakira buli muntu, kyali kijja mu nsi. Kigambo yali mu nsi. Katonda yatonda ensi ng'ayita mu ye. Naye Kigambo bwe yali mu nsi, ensi teyamutegeera. Yajja mu nsi ye, abantu be ne batamwaniriza. Naye abo abaamwaniriza ne bamukkiriza, yabasobozesa okufuuka abaana ba Katonda. Baafuuka abaana ba Katonda, mu ngeri eteri ya bulijjo abantu gye bazaalibwamu, wabula Katonda yennyini ye Kitaabwe. Kigambo yafuuka omuntu, n'abeera wamu naffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng'ajjudde ekisa era n'amazima. Ekitiibwa ekyo, kye yafuna ye, Omwana omu bw'ati yekka owa Katonda. Yowanne yakangula eddoboozi ng'amwogerako nti: “Ono gwe nayogerako, bwe nagamba nti: ‘Oyo anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga yabaawo nga nze sinnabaawo.’ ” Ku bugagga bwe obutakoma, ffenna kwe twagabana, ng'atuwa ebirabo eby'okumukumu. Katonda yawa Amateeka ng'ayita mu Musa, kyokka okusaasira era n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo. Tewali yali alabye Katonda, wabula Omwana we omu yekka, nga ye omu ne Katonda era abeerera ddala okumpi ne Kitaawe, ye yatubuulira Katonda bw'ali. Bino bye bigambo Yowanne Omubatiza bye yayogera, Abayudaaya ab'omu Yerusaalemu bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti: “Ggwe ani?” Teyagaana kuddamu, wabula yayatulira ddala nti: “Si nze Kristo.” Ne bamubuuza nti: “Kale ggwe ani? Ggwe Eliya?” Yowanne n'addamu nti: “Nedda.” Awo ne bamugamba nti: “Abaatutumye tunaabagamba nti ggwe ani? Weeyita otya?” N'addamu nti: “Nze ddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yayogera.” Abaatumibwa baali ba mu Bafarisaayo. Awo ne babuuza Yowanne nti: “Kale lwaki obatiza oba nga si ggwe Kristo oba Eliya, oba Omulanzi oli?” Yowanne n'abaddamu nti: “Nze mbatiza na mazzi, naye wakati mu mmwe wayimiriddewo gwe mutamanyi, anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.” Ebyo byabaawo e Betaniya, emitala w'omugga Yorudaani. Yowanne gye yabatirizanga. Ku lunaku olwaddirira, Yowanne n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Laba, Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo, aggyawo ebibi by'ensi. Ye wuuyo gwe nayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ Nange nali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n'amazzi, ye alyoke amanyibwe abantu ba Yisirayeli.” Yowanne n'ayatula ng'agamba nti: “Nalaba Mwoyo ng'ava mu ggulu, ng'afaanana ng'enjiibwa, ng'akka ku ye. Nze nali sinnamumanya, wabula Katonda eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'oliraba nga Mwoyo akka n'abeera ku ye, ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’ Ekyo nakiraba, era mbategeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.” Ku lunaku olwaddirira, era Yowanne yali akyali awo ng'ayimiridde wamu n'ababiri ku bayigirizwa be, n'alaba Yesu ng'atambula, n'agamba nti: “Laba Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo!” Abayigirizwa bombi ne bamuwulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu. Awo Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'abalaba nga bamugoberera, n'ababuuza nti: “Munoonya ki?” Ne bamuddamu nti: “Rabbi, osula wa?” (Rabbi, amakulu gaakyo, Muyigiriza). Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulabeyo.” Ne bagenda ne balaba gy'asula, ne bamala naye olunaku olwo. Obudde bwali nga essaawa kkumi ez'olweggulo. Omu ku abo abaawulira Yowanne ng'ayogera ne bagenda ne Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni. Ono yasooka kusanga muganda we Simooni, n'amugamba nti: “Messiya, tumulabye.” (Messiya, kwe kugamba nti “Kristo,” ekitegeeza nti “Eyafukibwako Omuzigo”). N'aleeta Simooni eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti “Ggwe Simooni, omwana wa Yona, onooyitibwanga Keefa” (Keefa ye Peetero, ekitegeeza nti “Lwazi”). Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'asalawo okugenda e Galilaaya. N'asanga Filipo, n'amugamba nti: “Yitanga nange.” Filipo yali w'e Betusayida, ekibuga Andereya ne Peetero gye baabeeranga. Filipo n'asanga Natanayili, n'amugamba nti: “Oyo Musa gwe yayogerako mu Kitabo ky'Amateeka, era n'abalanzi gwe baayogerako mu bye baawandiika, tumulabye. Ye Yesu ow'e Nazaareeti.” Natanayili n'amubuuza nti: “E Nazaareeti eyinza okuvaayo akalungi?” Filipo n'amuddamu nti: “Jjangu olabe.” Yesu bwe yalaba Natanayili ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti: “Laba Omuyisirayeli wawu, ataliimu bukuusa!” Natanayili n'amubuuza nti: “Wammanyira wa?” Yesu n'amuddamu nti: “Nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini, Filipo nga tannakuyita.” Natanayili n'amuddamu nti: “Muyigiriza, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Yisirayeli!” Yesu n'amugamba nti: “Okkirizza olw'okuba nga nkugambye nti nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini? Oliraba ebisinga ebyo.” Era n'amugamba nti: “Mazima ddala nkugamba nti muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku Mwana w'Omuntu.” Bwe waayitawo ennaku bbiri, ne wabaawo embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Galilaaya. Nnyina Yesu yaliyo. Yesu naye n'ayitibwa ku mbaga, awamu n'abayigirizwa be. Omwenge ogw'emizabbibu bwe gwaggwaawo, nnyina n'amugamba nti: “Tebakyalina mwenge ogw'emizabbibu.” Yesu n'amugamba nti: “Maama, ndeka! Ekiseera kyange tekinnatuuka” Nnyina n'agamba abaweereza nti: “Kyonna ky'anaabagamba mukikole.” Waaliwo amatogero mukaaga ag'amayinja, agaateekebwawo, olw'omukolo gw'Abayudaaya ogw'okwetukuza, buli limu nga livaamu lita kikumi oba kikumi mu ataano. Yesu n'abagamba nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuliza ddala okutuuka ku migo. Awo n'abagamba nti: “Kaakano musene, mutwalire omugabuzi w'embaga.” Ne bamutwalira. Omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse omwenge ogw'emizabbibu, n'atamanya gye guvudde, sso abaweereza abaasena amazzi, bo nga bamanyi. N'ayita awasizza omugole, n'amugamba nti: “Buli muntu asooka kugabula mwenge ogw'emizabbibu mulungi, abantu bwe bamala okukkuta, n'aleeta ogutali mulungi. Ggwe waterese omwenge ogw'emizabbibu omulungi okutuusa kaakano!” Mu byewuunyo Yesu bye yakola, kino kye kyasooka. Yakikolera mu Kaana eky'e Galilaaya, n'alaga ekitiibwa kye, abayigirizwa be ne bamukkiriza. Ebyo bwe byaggwa, Yesu ne baganda be n'abayigirizwa be, era ne nnyina, ne baserengeta e Kafarunawumu, ne bamalayo ennaku ntonotono. Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemu. Mu Ssinzizo n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjiibwa, era n'abo abawaanyisa ensimbi. N'akwata emiguwa, n'agikolamu obuswanyu, n'abagoba bave mu Ssinzizo, era n'agobamu endiga n'ente. Era n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, ensimbi zaabwe n'aziyiwa. N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano. Ennyumba ya Kitange muleme kugifuula ya kusuubuliramu.” Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti: “Okwagala ennyumba yo, ayi Mukama, kulindya.” Awo Abayudaaya ne bamugamba nti: “Kyewuunyo ki ky'okola okutulaga nti olina obuyinza okukola bino?” Yesu n'abaddamu nti: “Mumenyeewo Essinzizo lino, nze ndirizimbira ennaku ssatu.” Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Essinzizo lino lyazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga. Naye ggwe olirizimbira ennaku ssatu?” Kyokka Yesu, Essinzizo lye yayogerako, gwe mubiri gwe. Bwe yamala okuzuukira, olwo abayigirizwa be ne bajjukira nti yakyogera, ne bakkiriza ebyawandiikibwa, era n'ebigambo Yesu bye yayogera. Yesu bwe yali e Yerusaalemu ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bangi bwe baalaba ebyewuunyo bye yakola, ne bamukkiriza. Kyokka Yesu n'atabeeyabizaamu, kubanga yamanya abantu bonna. Yali teyeetaaga mulala kumubuulira ebifa ku bantu, kubanga ye yennyini yali amanyi ebiri mu mitima gy'abantu. Waaliwo omuntu, erinnya lye Nikodemo, omukulembeze mu Bayudaaya, nga wa mu kibiina kya Bafarisaayo. Oyo n'ajja ekiro eri Yesu, n'amugamba nti: “Rabbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyatumibwa Katonda, kubanga tewali ayinza kukola byewuunyo ggwe by'okola, wabula nga Katonda ali naye.” Yesu n'amuddamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwakubiri, tayinza kulaba Bwakabaka bwa Katonda.” Nikodemo n'amubuuza nti: “Omuntu akuze ayinza atya okuzaalibwa nate? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina, n'azaalibwa omulundi ogwokubiri?” Yesu n'addamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo Mutuukirivu, tayinza kuyingira Bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n'ekizaalibwa omwoyo, kiba mwoyo. “Teweewuunya kubanga nkugambye nti muteekwa okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. Empewo gy'eyagala gy'ekuntira. Owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy'eva na gy'eraga. Buli muntu azaalibwa Mwoyo, bw'atyo bw'aba.” Nikodemo n'amubuuza nti: “Ebyo biyinzika bitya?” Yesu n'amuddamu nti: “Ggwe omuyigiriza wa Yisirayeli n'ototegeera ebyo? Mazima ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi. Tukakasa kye twalaba, sso temukkiriza bye tubategeeza. Oba nga mbabuulidde eby'oku nsi ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu? Tewali yali alinnye mu ggulu, wabula oyo eyava mu ggulu, ye Mwana w'Omuntu.” Nga Musa bwe yawanika omusota ogw'ekikomo ku muti mu ddungu, n'Omwana w'Omuntu bw'atyo bw'ateekwa okuwanikibwa, buli muntu amukkiriza, afune obulamu obutaggwaawo mu ye. Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi, kyeyava awaayo Omwana we omu yekka, buli amukkiriza aleme kuzikirira, wabula abe n'obulamu obutaggwaawo. Katonda teyatuma Mwana we mu nsi agisalire musango, wabula yamutuma, ensi eryoke erokolerwe mu ye. Buli amukkiriza, tegumusinga. Atamukkiriza, guba gumaze okumusinga, kubanga takkirizza Omwana omu bw'ati owa Katonda. Guno gwe musango. Ekitangaala kyajja mu nsi, naye abantu ne baagala ekizikiza okusinga ekitangaala, olw'ebikolwa byabwe ebibi. Buli muntu akola ebikolwa ebibi, akyawa ekitangaala, era tajja eri kitangaala, ebikolwa bye bireme kulabibwa. Naye buli akolera ku mazima, ajja mu kitangaala, ekitangaala kirage nti ebikolwa bye bikoleddwa, nga byesigamye ku Katonda. Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu kitundu eky'e Buyudaaya, n'abeera eyo nabo, n'abatiza. Yowanne naye yali ng'abatiriza mu Enoni, okumpi ne Saalimu, kubanga amazzi gye gaali amangi. Abantu ne bagendayo, ne babatizibwa. Olwo Yowanne yali tannaggalirwa mu kkomera. Awo olwatuuka, abayigirizwa ba Yowanne ne baba n'empaka n'Omuyudaaya, ku bifa ku mukolo ogw'okunaaba okw'okutukuzibwa. Ne bagenda eri Yowanne, ne bamugamba nti: “Rabbi, oli eyali naawe emitala w'omugga Yorudaani era gwe wayogerako, kaakano abatiza, era abantu bonna bagenda gy'ali.” Yowanne n'addamu nti: “Omuntu tayinza kuba na kintu, wabula nga Katonda ye akimuwadde. Mmwe mwennyini munjulira nga nayogera nti: ‘Si nze Kristo, wabula natumibwa kumukulemberamu.’ Omugole aba w'oyo awasizza. Mukwano gw'oyo awasizza omugole, amubeera kumpi n'awuliriza, n'asanyuka nnyo okuwulira eddoboozi ly'oyo awasizza omugole. Bwe kityo essanyu lyange lituukiridde. Ye ateekwa okukula, naye nze okutoowala.” Oyo ava mu ggulu ye afuga byonna. Oyo ava ku nsi aba wa ku nsi, era ayogera ku bya ku nsi. Ava mu ggulu ye afuga byonna. Ayogera ku kye yalaba era kye yawulira, wabula tewali akkiriza bigambo bye. Oyo akkiriza ebigambo bye, akakasa nti Katonda wa mazima, kubanga oyo Katonda gwe yatuma, ayogera ebigambo bya Katonda, kubanga Katonda amuwa Mwoyo we omujjuvu. Kitaawe w'Omwana ayagala Omwana we, era byonna yabissa mu buyinza bwe. Akkiriza Omwana, aba n'obulamu obutaggwaawo. Kyokka atakkiriza Mwana, taba na bulamu obutaggwaawo, wabula asunguwalirwa Katonda. Yesu bwe yamanya ng'Abafarisaayo bawulidde nti afuna era abatiza abayigirizwa bangi okusinga Yowanne, ( sso nno Yesu yennyini si ye yabatizanga, wabula abayigirizwa be), n'ava mu Buyudaaya, n'addayo e Galilaaya. Yali ateekwa okuyita mu Samariya. Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samariya, ekiyitibwa Sikari, ekiriraanye ennimiro Yakobo gye yawa mutabani we Yosefu. Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Yesu n'atuula awo ku luzzi, ng'olugendo lumukooyezza. Essaawa zaali nga mukaaga ez'omu ttuntu. Omukazi Omusamariya n'ajja okusena amazzi. Yesu n'amugamba nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.” Abayigirizwa ba Yesu baali bagenze mu kibuga okugula emmere. Awo omukazi Omusamariya n'amuddamu nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamariya amazzi okunywa?” (Abayudaaya baali tebatabagana na Basamariya). Yesu n'amuddamu nti: “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, era ng'omanyi oyo akugamba nti: ‘Mpa ku mazzi nnyweko,’ ggwe wandimusabye, era yandikuwadde amazzi amalamu.” Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, tolina ky'osenya, ate oluzzi luwanvu. Onoggya wa amazzi ago amalamu? Ggwe mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno mwe yanywanga ye, n'abaana be, era n'ensolo ze?” Yesu n'amuddamu nti: “Buli muntu anywa ku mazzi gano, aliddamu okulumwa ennyonta. Naye buli anywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta emirembe n'emirembe, kubanga amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka ensulo eneevangamu amazzi amalamu, n'emuwa obulamu obutaggwaawo.” Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago, nneme kulumwanga nnyonta, wadde okujjanga wano okusena amazzi.” Yesu n'amugamba nti: “Genda oyite balo, okomewo wano.” Omukazi n'amuddamu nti: “Sirina baze.” Yesu n'amugamba nti: “Oli mutuufu okugamba nti tolina balo, kubanga walina babalo bataano, era oyo gw'olina kati si balo ddala. Ekyo oyogedde kya mazima.” Omukazi n'agamba Yesu nti: “Ssebo, ndaba ng'oli mulanzi. Ffe Abasamariya, bajjajjaffe ku lusozi luno kwe baasinzizanga Katonda. Naye mmwe Abayudaaya mugamba nti Yerusaalemu kye kifo, mwe tuteekwa okusinzizanga Katonda.” Yesu n'amugamba nti: “Mukazi wattu, nzikiriza, ekiseera kirituuka, nga Kitaffe tebakyamusinziza ku lusozi luno, wadde mu Yerusaalemu. Mmwe musinza kye mutamanyi. Ffe tusinza kye tumanyi, kubanga obulokozi buva mu Bayudaaya. Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu, basinzenga Kitaffe mu mwoyo era mu mazima, kubanga Kitaffe abamusinza bwe batyo, b'ayagala. Katonda Mwoyo, n'abo abamusinza bateekwa okumusinziza mu mwoyo era mu mazima.” Omukazi n'amugamba nti: “Mmanyi nga Messiya, ayitibwa Kristo, ajja. Ye bw'alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” Yesu n'amugamba nti: “Ye Nze ayogera naawe.” Amangwago abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okusanga ng'ayogera n'omukazi. Kyokka ne wataba abuuza mukazi nti: “Oyagala ki?” Oba abuuza Yesu nti: “Lwaki oyogera naye?” Olwo omukazi n'aleka awo ensuwa ye, n'addayo mu kibuga, n'agamba abantu nti: “Mujje mulabe omuntu antegeezezza byonna bye nakolanga. Ayinza okuba nga ye Kristo!” Ne bava mu kibuga, ne bagenda eri Yesu. Mu kiseera ekyo, abayigirizwa baali nga beegayirira Yesu, nga bagamba nti: “Muyigiriza, lya ku mmere.” Ye n'abaddamu nti: “Nze nnina emmere gye ndya, mmwe gye mutamanyi.” Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti: “Waliwo omuntu amuleetedde emmere?” Yesu n'abagamba nti: “Emmere yange, kwe kukola ebyo eyantuma by'ayagala, n'okutuukiriza omulimu gwe. Mmwe temulina njogera egamba nti: ‘Esigaddeyo emyezi ena, amakungula gatuuke?’ Nze mbagamba nti muyimuse amaaso, mulabe ennimiro. Ebibala byengedde, bituuse okukungula. “Omuntu akungula aweebwa empeera, obulamu obutaggwaawo n'abukuŋŋaanyiza ebibala. Oyo asiga, n'oyo akungula, ne balyoka basanyukira wamu, kubanga enjogera eno ya mazima egamba nti: ‘Asiga mulala, n'akungula mulala.’ Nze mbatumye okukungula kye mutaateganira. Abalala be baategana, mmwe ne musanga ebibala by'entuuyo zaabwe.” Bangi ku Basamariya ab'omu kibuga ekyo, ne bakkiriza Yesu, olw'ekigambo ky'omukazi kye yabagamba nti: “Antegeezezza byonna bye nakolanga.” Awo Abasamariya bwe baatuuka Yesu w'ali ne bamwegayirira abeereko ewaabwe. N'amalayo ennaku bbiri. Bwe yayogera nabo, n'abalala bangi ne bamukkiriza. Ne bagamba omukazi nti: “Kaakano tukkiriza, si lwa bigambo byo, wabula kubanga tumwewuliridde ffe ffennyini, ne tumanya ng'ono, ddala ye Mulokozi w'ensi.” Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, Yesu n'avaayo, n'agenda e Galilaaya. Yesu yennyini yakakasa nti: “Omulanzi tassibwamu kitiibwa mu nsi y'ewaabwe.” Awo bwe yatuuka e Galilaaya, Abagalilaaya ne bamwaniriza, kubanga nabo baali bagenze e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne balaba byonna bye yakola ku Mbaga eyo. Awo Yesu n'addayo e Kaana eky'e Galilaaya, gye yafuulira amazzi omwenge ogw'emizabbibu. Waaliyo omukungu wa kabaka, eyalina mutabani we, ng'alwalidde e Kafarunawumu. Bwe yawulira nti Yesu avudde mu Buyudaaya atuuse mu Galilaaya, n'agenda gy'ali, n'amwegayirira aserengete e Kafarunawumu, awonye mutabani we, eyali ng'ali kumpi okufa. Awo Yesu n'amugamba nti: “Bwe mutalaba byewuunyo na bya magero, temukkiriza.” Omukungu n'amuddamu nti: “Ssebo, serengetayo ng'omwana wange tannafa.” Yesu n'amugamba nti: “Genda, omwana wo mulamu.” Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda. Bwe yali ng'akyali mu kkubo, abaddu be ne bamusisinkana, ne bamutegeeza nti omwana we mulamu. N'ababuuza essaawa mwe yatandikidde okuba obulungi. Ne bamugamba nti: “Omusujja gwamuwonako jjo, ku ssaawa musanvu.” Awo kitaawe w'omwana n'ajjukira nti eyo ye ssaawa yennyini, Yesu mwe yamugambira nti: “Omwana wo mulamu.” Awo ye, awamu n'ab'omu maka ge bonna, ne bakkiriza. Kino kye kyewuunyo ekyokubiri Yesu kye yakola, ng'akomyewo e Galilaaya okuva e Buyudaaya. Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo embaga y'Abayudaaya. Yesu n'ayambuka e Yerusaalemu. Mu Yerusaalemu, okumpi n'Omulyango gw'Endiga, waaliwo ekidiba, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Betizata, ekyazimbibwako ebigango bitaano. Mu bigango ebyo, mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo, abazibe b'amaaso, abalema, n'abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okutabuka. Malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu, n'atabula amazzi. Oyo eyasookanga okukka mu kidiba amazzi nga gamaze okutabulwa, yawonyezebwanga buli bulwadde bwonna bwe yabanga nabwo.] Waaliwo omuntu, ng'amaze emyaka amakumi asatu mu munaana nga mulwadde. Yesu bwe yalaba omuntu oyo ng'agalamidde awo, era n'amanya ng'abadde awo okumala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwonyezebwa?” Omulwadde n'amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu anteeka mu kidiba, amazzi nga gatabuse. Nze wentuukirayo, ng'omulala yansoose dda.” Yesu n'amugamba nti: “Golokoka, weetikke akatanda ko, otambule.” Amangwago omuntu oyo n'awonyezebwa, ne yeetikka akatanda ke, n'atambula. Olunaku olwo lwali lwa Sabbaato. Abayudaaya ne bagamba oyo awonyezeddwa nti: “Olwaleero lwa Sabbaato, tokkirizibwa kwetikka katanda ko.” Ye n'abaddamu nti: “Oli amponyezza, ye yaŋŋambye nti: ‘Weetikke akatanda ko, otambule.’ ” Ne bamubuuza nti: “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti: ‘Weetikke akatanda ko, otambule?’ ” Kyokka eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo. Oluvannyuma, Yesu n'asanga omuntu oyo mu Ssinzizo, n'amugamba nti: “Laba, kati owonyezeddwa, toddangayo okwonoona, akabi akasinga kaleme kukubaako.” Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya. Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu, kubanga yakola ebintu ebiri ng'ekyo ku Sabbaato. Yesu n'abaddamu nti: “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.” Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya Sabbaato kyokka, naye yeeyita n'Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanankana ne Katonda. Awo Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti Omwana talina ky'ayinza kukola ku bubwe, wabula ekyo ky'alaba nga Kitaawe akikola, kubanga ye by'akola, n'Omwana by'akola. Kitaawe w'Omwana oyo, amwagala, amulaga byonna ye yennyini by'akola. Era alimulaga n'ebisinga ku ebyo, mulyoke mwewuunye. “Nga Kitaawe bw'azuukiza abafu n'abazzaamu obulamu, bw'atyo n'Omwana awa obulamu abo b'ayagala okubuwa. Era Kitaawe talina n'omu gw'asalira musango, wabula Omwana gwe yawa okusala emisango gyonna, bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bakissa mu Kitaawe. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga ne Kitaawe eyamutuma, tamutaddeemu kitiibwa. “Mazima ddala mbagamba nti awulira ebigambo byange, n'akkiriza oyo eyantuma, aba n'obulamu obutaggwaawo, era tasalirwa musango. Aba avudde mu kufa, ng'atuuse mu bulamu. Mazima ddala mbagamba nti ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda. Era abo abaliwulira, baliba balamu. “Nga Katonda bw'ali ensibuko y'obulamu, bw'atyo bwe yawa Omwana we okuba ensibuko y'obulamu. Era yamuwa obuyinza okusala emisango, kubanga ye Mwana w'Omuntu. Ekyo temukyewuunya, kubanga ekiseera kijja, bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bazivaamu. Abo abaakolanga ebirungi, barizuukira ne baba balamu. Abo abaakolanga ebibi, balizuukira ne basingibwa omusango. “Nze siyinza kubaako kye nkola ku bwange. Nsala omusango, nga Katonda bw'andagira okugusala. N'olwekyo ensala yange eba ntuufu, kubanga sikolera ku kye njagala, wabula ku ekyo eyantuma ky'ayagala. “Singa nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima. Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw'ampaako bwa mazima. Mmwe mwatuma ababaka eri Yowanne, n'ayogera eky'amazima. Si lwa kuba nti njagala okujulirwa omuntu obuntu, naye njogera ebyo mulyoke mulokolebwe. Yowanne yali ttaala eyaka era emulisa. Naye mmwe mwayagala kumala kaseera buseera, nga musanyukira mu kitangaala kye. “Naye nnina obujulirwa obusinga n'obwa Yowanne bwe yawa. Ebyo byennyini bye nkola, Kitange bye yandagira okutuukiriza, bye biraga nti Kitange ye yantuma. Ne Kitange eyantuma, naye yennyini anjulira. Mmwe temuwuliranga ku ddoboozi lye n'akatono, wadde okulaba bw'afaanana. Era ekigambo kye temukikuuma mu mitima gyammwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma. “Mwekenneenya ebyawandiikibwa, kubanga mulowooza nti mu byo, mwe muli obulamu obutaggwaawo. Sso nabyo byennyini binjogerako, era mmwe ne musigala nga temwagala kujja gye ndi, okufuna obulamu. “Sinoonya kusiimibwa bantu. Naye mmwe mbamanyi nga temuliimu kwagala Katonda. Nze najja mu linnya lya Kitange, naye mmwe temunnyaniriza. Omulala bw'ajja ku bubwe, oyo mujja kumwaniriza. Kale muyinza mutya okukkiriza, nga munoonya kutendebwa bantu bannammwe, sso nga temufa ku kutendebwa Katonda Omu yekka? “Temulowooza nti nze ndibawawaabira eri Kitange. Alibawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi. Singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza, kubanga yawandiika ebinjogerako. Kale oba nga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?” Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alaga emitala w'ennyanja ey'e Galilaaya, ey'e Tiberiya. Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyewuunyo bye yakola, mu kuwonya abalwadde. Yesu n'alinnya ku lusozi, n'atuula eyo wamu n'abayigirizwa be. Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako, yali kumpi okutuuka. Yesu bwe yasitula amaaso, n'alaba abantu bangi nnyo nga bajja gy'ali, n'agamba Filipo nti: “Tunaagula wa emmere, abantu bano gye banaalya?” Ekyo yakyogera kumugeza, ye ng'amanyi ky'agenda okukola. Filipo n'amuddamu nti: “Emmere egula denaari ebikumi ebibiri teyinza kubabuna, buli muntu okulyako wadde akatono.” Omulala ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti: “Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya bbaale, n'ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki, ku bantu abangi bwe bati?” Yesu n'agamba nti: “Mutuuze abantu.” Waaliwo essubi lingi mu kifo ekyo. Awo abantu bonna ne batuula. Abasajja baali ng'enkumi ttaano. Awo Yesu n'atoola emigaati, ne yeebaza Katonda, n'agigabira abantu abatudde. Ne ku byennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baagala. Bwe baamala okukkuta, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo, buleme kwonooneka.” Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri eby'obutundutundu obw'emigaati etaano egya bbaale, obwasigalawo nga bamaze okulya. Abantu bwe baalaba ekyewuunyo Yesu kye yakola, ne bagamba nti: “Ddala ono ye mulanzi alindirirwa okujja mu nsi!” Yesu bwe yategeera nga baali banaatera okujja okumukwata bamufuule kabaka, n'addayo ku lusozi, n'abeera eyo yekka. Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja, ne basaabala mu lyato, ne bawunguka okugenda e Kafarunawumu. Obudde bwali nga buzibye, ate nga ne Yesu tannajja gye bali. Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n'esiikuuka. Bwe baamala okuvugako kilomita nga nnya oba ttaano, ne balaba Yesu ng'atambula ku mazzi, ng'asemberera eryato, ne batya. Ye n'abagamba nti: “Ye Nze, temutya!” Baali baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda. Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali basigadde emitala w'ennyanja, ne balaba nga waliwo eryato limu, era ne bamanya nga Yesu yali tasaabadde mu lyato wamu n'abayigirizwa be, wabula abayigirizwa be nga baagenze bokka. Awo amaato amalala ne gava e Tiberiya, ne gagoba okumpi n'ekifo abantu we baaliira emigaati, nga Mukama waffe amaze okwebaza Katonda. Abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo, wadde abayigirizwa be, nabo ne basaabala mu maato, ne bajja e Kafarunawumu nga bamunoonya. Abantu bwe baasanga Yesu emitala w'ennyanja, ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, wazze ddi wano?” Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba ebyewuunyo bye nkola, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. Muleme kuteganira mmere eggwaawo, naye muteganire emmere ey'olubeerera, ewa abantu obulamu obutaggwaawo, Omwana w'Omuntu gy'alibawa. Katonda Kitaawe yamussaako akabonero akalaga obuyinza bwe.” Awo ne bamubuuza nti: “Tukole ki okutuukiriza ebyo Katonda by'ayagala?” Yesu n'abaddamu nti: “Katonda ky'ayagala mukole, kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.” Ne bamugamba nti: “Kyewuunyo ki ggwe ky'okola, tukirabe tulyoke tukkirize? Kiruwa ky'okola? Bajjajjaffe baalya mannu mu ddungu, nga bwe kyawandiikibwa nti: ‘Yabawa omugaati oguva mu ggulu balye.’ ” Awo Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa omugaati oguva mu ggulu, wabula Kitange ye abawa omugaati ddala oguva mu ggulu, kubanga omugaati Katonda gw'agaba, gwe gwo oguva mu ggulu, era oguleetera abantu obulamu.” Awo bo ne bamugamba nti: “Ssebo, tuwenga bulijjo omugaati ogwo.” Yesu n'abagamba nti: “Nze mugaati ogw'obulamu. Ajja gye ndi talumwa njala. Anzikiriza talumwa nnyonta n'akatono. “Nabagamba dda nti mundabye ne mutakkiriza. Buli muntu Kitange gw'ampa, alijja we ndi, era buli ajja gye ndi, sirimugobera bweru n'akatono, kubanga nava mu ggulu okukola eyantuma ky'ayagala, sso si nze kye njagala. Kino eyantuma ky'ayagala, ku bonna be yampa, nneme kufiirwako n'omu, wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw'enkomerero. Kitange ky'ayagala kye kino: buli alaba nze Omwana we n'anzikiriza, abe n'obulamu obutaggwaawo, era ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.” Awo Abayudaaya ne beemulugunyiza Yesu kubanga yagamba nti: “Nze mugaati ogwava mu ggulu.” Ne bagamba nti: “Ono si ye Yesu omwana wa Yosefu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti: ‘Nava mu ggulu?’ ” Yesu n'abaddamu nti: “Muleke kwemulugunya. Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma ye amusise, ate nze ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero. Kyawandiikibwa mu kitabo ky'abalanzi nti: ‘Bonna Katonda alibayigiriza.’ Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi. Si kwe kugamba nti waliwo eyali alabye Kitange. Oyo eyava ewa Katonda ye yekka eyalaba Kitange. “Mazima ddala mbagamba nti oyo akkiriza, aba n'obulamu obutaggwaawo. Nze mugaati ogw'obulamu. Bajjajjammwe baalya mannu mu ddungu, ne bafa. Guno gwe mugaati oguva mu ggulu, buli agulyako aleme kufa. Nze mugaati oguwa obulamu ogwava mu ggulu. Omuntu bw'alya ku mugaati guno, aliba mulamu emirembe n'emirembe. Era omugaati gwe ndigaba okuwa abantu obulamu, gwe mubiri gwange.” Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka nga bagamba nti: “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?” Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, era bwe mutanywa musaayi gwe, mu mmwe temuba na bulamu. Oyo alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, aba n'obulamu obutaggwaawo. Era ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero. Omubiri gwange kyakulya ddala, n'omusaayi gwange kyakunywa ddala. “Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, aba mu nze, nange ne mba mu ye. Nga nze eyatumibwa Kitange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, n'oyo andya aliba mulamu ku bwange. Guno gwe mugaati ogwava mu ggulu. Teguli ng'ogwo bajjajjammwe gwe baalya ne bafa. Alya omugaati guno, aliba mulamu emirembe n'emirembe.” Ebyo Yesu yabyogera ng'ayigiriza mu kuŋŋaaniro e Kafarunawumu. Awo bangi ku bayigirizwa be bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ekigambo ekyo nga kizibu! Ani ayinza okukiwuliriza?” Yesu bwe yategeera ng'abayigirizwa be beemulugunya olw'ekyo, n'abagamba nti: “Ekyo kibeesittaza? Kale ate bwe muliraba Omwana w'Omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye? Omwoyo gwe guwa obulamu, omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo era bwe bulamu. Naye waliwo ku mmwe abatakkiriza.” (Okuviira ddala mu kusooka, Yesu yamanya abo abatakkiriza, era yamanya agenda okumulyamu olukwe). Awo n'agamba nti: “Kyenvudde mbagamba nti: ‘Tewali ayinza kujja gye ndi, wabula nga Kitange ye amusobozesezza okujja.’ ” Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako, ne bataddayo kuyitanga naye. Awo Yesu n'abuuza abayigirizwa be ekkumi n'ababiri nti: “Nammwe mwagala kugenda?” Simooni Peetero n'amuddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo. Ffe tukkiriza, era tumanyi nga ggwe Mutuukirivu wa Katonda.” Yesu n'abaddamu nti: “Si nze nabalonda mmwe ekkumi n'ababiri? Naye omu ku mmwe Sitaani!” Yayogera ku Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe, newaakubadde nga yali omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri. Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'atambula mu Galilaaya. Teyayagala kutambula mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta. Embaga y'Abayudaaya ey'Ensiisira yali eneetera okutuuka. Baganda ba Yesu ne bamugamba nti: “Va wano ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe ku ebyo by'okola, kubanga tewali akweka ekyo ky'akola, bw'aba ng'ayagala amanyike mu lwatu. Ggwe nga bw'okola bino, leka ensi yonna ekumanye.” ( Ne baganda be bennyini tebaamukkiriza). Awo Yesu n'abagamba nti: “Ekiseera ekyange tekinnatuuka, naye ekiseera ekyammwe bulijjo kibaawo. Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye nze enkyawa, kubanga ngitegeeza nti ebikolwa by'ekola bibi. Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sinnatuusa kwambuka ku mbaga eyo, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” Bwe yamala okubagamba ebyo, n'asigala mu Galilaaya. Baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si mu lwatu, wabula mu kyama. Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, nga beebuuza nti: “Ali ludda wa?” Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi ku ye mu bantu. Abamu nga bagamba nti: “Mulungi.” Abamu nga bagamba nti: “Nedda, akyamya abantu.” Kyokka olw'okutya Abayudaaya, ne wataba amwogerako mu lwatu. Awo mu makkati g'ekiseera eky'embaga, Yesu n'ayambuka mu Ssinzizo, n'ayigiriza. Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono amanyi atya ebingi bwe bityo, sso nga tayigangako?” Yesu n'abaddamu nti: “Bye njigiriza si byange, wabula by'oyo eyantuma. Buli ayagala okukola Katonda by'ayagala, alitegeera oba nga bye njigiriza biva wa Katonda, oba nga byange ku bwange. Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, aba wa mazima, era tabaamu bukuusa. Musa teyabawa Amateeka? Naye ku mmwe tewali akwata Mateeka ago. Lwaki musala amagezi okunzita?” Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Oliko omwoyo omubi! Ani asala amagezi okukutta?” Yesu n'addamu nti: “Nakola ekikolwa kimu, mwenna ne mwewuunya. Kale Musa yabalagira okukomolebwa (newaakubadde tekwatandikira ku Musa, wabula ku bajjajjammwe). Ne ku lunaku lwa Sabbaato mukomola omuntu. Oba ng'omuntu akomolebwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, lwaki nze munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato, n'aba mulamu ddala? Mulekenga kusala musango nga musinziira ku bya kungulu, naye musalenga omusango, nga mugoba ensonga.” Awo abamu ku bantu ab'omu Yerusaalemu ne bagamba nti: “Ono si gwe banoonya okutta? Ate wuuno ayogera mu lwatu, era tebaliiko kye bamugamba. Ab'obuyinza bandiba nga bategeeredde ddala ng'ono ye Kristo? Naye ono tumanyi gy'ava, sso nga Kristo bw'alijja, tewali alimanya gy'ava.” Awo Yesu n'akangula ku ddoboozi ng'ayigiriza mu Ssinzizo, n'agamba nti: “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo, sso sajja ku bwange, wabula oyo eyantuma ddala gyali, kyokka mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi, kubanga nava gy'ali, era ye yantuma.” Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka. Era bangi mu kibiina ky'abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti: “Kristo bw'alijja, alikola ebyewuunyo bingi okusinga ono by'akola?” Abafarisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuma abaserikale okumukwata. Awo Yesu n'agamba nti: “Nja kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke ŋŋende eri oyo eyantuma. Mulinnoonya, naye temulindaba, nga gye ndi mmwe temuyinza kutuukayo.” Awo Abayudaaya ne bagambagana nti: “Ono ayagala kugenda wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani? Ategeeza ki bw'agamba nti: ‘Mulinnoonya, naye temulindaba,’ era nti: ‘Gye ndibeera temuyinza kutuukayo?’ ” Ku lunaku olw'embaga olusembayo era olusingira ddala obukulu, Yesu n'ayimirira, n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Buli alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe. Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, ‘Emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.’ ” Ekyo Yesu yakyogera ku Mwoyo Mutuukirivu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, olw'okubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa. Abamu mu kibiina ky'abantu ekyo bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bagamba nti: “Ddala ono ye mulanzi oli.” Abalala ne bagamba nti: “Ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti: “Kristo asibuka mu Galilaaya? Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era wa kuzaalibwa mu Betilehemu, ekibuga Dawudi mwe yali?” Awo ekibiina ky'abantu ne kyawukanamu olwa Yesu. Abamu ku bo ne baagala okumukwata, kyokka ne wataba amukwatako. Awo abaserikale ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafarisaayo. Bo ne bababuuza nti: “Lwaki temumuleese?” Abaserikale ne baddamu nti: “Tewali muntu yali ayogedde ng'oyo bw'ayogera!” Abafarisaayo ne babaddamu nti: “Era nammwe abakyamizza? Mu bakulembeze, wadde mu Bafarisaayo, ani yali amukkiriza? Ekibiina ky'abantu kino tekitamanyi mateeka, era kikolimiddwa!” Nikodemo, omu ku bo, eddako eyagenda eri Yesu, n'abagamba nti: “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tebannaba kumuwozesa, n'okutegeera ky'akoze?” Ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe wava Galilaaya? Weetegereze ebyawandiikibwa, ojja kulaba nti e Galilaaya tesibuka mulanzi.” [ Buli muntu n'addayo ewuwe. Awo Yesu n'alaga ku Lusozi olw'emiti Emizayiti. Ku makya ennyo n'akomawo mu Ssinzizo, abantu bonna ne bajja gy'ali, n'atuula n'abayigiriza. Awo abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo, ne baleeta omukazi gwe baakwata ng'ayenda, ne bamuteeka bonna we bayinza okumulabira. Ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, omukazi ono asangiddwa ng'ayenda ne bamukwata. Mu mateeka, Musa yatulagira, ow'engeri eyo okumukuba amayinja afe. Ggwe ogamba ki?” Ekyo baakyogera nga bamukema, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika ku ttaka n'olunwe lwe. Bwe beeyongera okumubuuza, n'akutaamulukuka, n'agamba nti: “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.” N'addamu okukutama, n'awandiika ku ttaka n'olunwe lwe. Bo bwe baawulira ebyo, ne bavaawo kinnoomu, abasinga obukulu nga be basooka. Yesu n'omukazi eyali ayimiridde awo, ne basigalawo bokka. Yesu n'akutaamulukuka, n'amugamba nti: “Mukazi wattu, baluwa? Tewali akusalidde musango kukusinga?” Omukazi n'addamu nti: “Tewali, Ssebo.” Yesu n'agamba nti: “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”] Awo Yesu n'ayongera okwogera nabo, n'agamba nti: “Nze kitangaala ky'ensi. Angoberera, taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n'ekitangaala eky'obulamu.” Abafarisaayo ne bamugamba nti: “Weeyogerako, by'oyogera si bya mazima.” Yesu n'abaddamu nti: “Newaakubadde nga neeyogerako, bye njogera bya mazima, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva, wadde gye ndaga. Mmwe musala omusango ng'abantu obuntu. Nze sisalira muntu musango. Naye mba kusala musango, ensala yange yandibadde ya mazima, kubanga siri bw'omu, ndi wamu ne Kitange eyantuma. Ne mu Mateeka gammwe kyawandiikibwa nti obujulizi bw'ababiri kye bukakasa, kiba kya mazima. Nze neeyogerako, ne Kitange eyantuma akakasa bye njogera.” Awo ne bamubuuza nti: “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n'addamu nti: “Nze temummanyi, ne Kitange temumumanyi. Singa nze mummanyi, ne Kitange mwandimumanye.” Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng'ayigiriza mu Ssinzizo. Ne wataba n'omu amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka. Awo Yesu n'abagamba nate nti: “Nze ŋŋenda. Mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo.” Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Agenda kwetta, kyava agamba nti: ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo’?” Yesu n'abagamba nti: “Mmwe muli ba ku nsi, nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, nze siri wa ku nsi kuno. Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti Ye Nze, mulifiira mu bibi byammwe.” Ne bamubuuza nti: “Ggwe ani?” Yesu n'abaddamu nti: “Nga bwe mbagambye olubereberye. Nnina bingi eby'okuboogerako, n'okubasalira omusango okubasinga, kyokka oyo eyantuma ddala gyali era ebyo bye nawulira gy'ali, bye ntegeeza abantu.” Tebaategeera nti Yesu yali abagamba ku Kitaawe. Awo n'abagamba nti: “Bwe mulimala okuwanika Omwana w'Omuntu, ne mulyoka mutegeera nga Ye Nze, era nga Nze siriiko kye nkola ku bwange, wabula nga njogera ebyo, Kitange bye yanjigiriza. Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bw'omu, kubanga bulijjo nkola by'ayagala.” Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo, bangi ne bamukkiriza. Awo Yesu, Abayudaaya abaamukkiriza, n'abagamba nti: “Bwe munywerera ku bye mbayigiriza, muba bayigirizwa bange ddala, era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe.” Ne bamuddamu nti: “Ffe tuli bazzukulu ba Aburahamu. Tetubangako baddu ba muntu n'omu. Oyinza otya okugamba nti: ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ” Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti buli akola ekibi, aba muddu wa kibi. Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana aba waamu ennaku zonna. Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, mulibeera ddala ba ddembe. Mmanyi nga muli bazzukulu ba Aburahamu, naye musala amagezi okunzita, kubanga bye njigiriza temubikkiriza. Nze njogera ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.” Ne bamuddamu nti: “Kitaffe ye Aburahamu.” Yesu n'abagamba nti: “Singa mubadde baana ba Aburahamu, mwandikoze ebyo Aburahamu bye yakola. Naye kaakano, nze omuntu ababuulidde amazima ge nawulira okuva eri Katonda, musala amagezi okunzita. Aburahamu ekyo takikolanga. Mmwe mukola ebyo kitammwe bye yakola.” Ne bamugamba nti: “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi. Kitaffe tulina omu, ye Katonda.” Yesu n'abagamba nti: “Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde, kubanga nava eri Katonda ne njija, era sajja ku bwange, wabula ye ye yantuma. Lwaki temutegeera bye njogera? Kyemuva mutabitegeera, kubanga temwagala kuwulira bigambo byange. “Kitammwe ye Sitaani, era mwagala okukola ebyo kitammwe bye yeegomba. Ye okuviira ddala olubereberye mutemu, tanywereranga ku mazima, kubanga mu ye temuli mazima. Bw'ayogera eky'obulimba, aba ayogera ekikye ddala, kubanga ye mulimba, era ye nsibuko y'obulimba. Naye nze kubanga njogera amazima, temunzikiriza. “Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima lwaki temunzikiriza? Omuntu wa Katonda, awulira ebigambo bya Katonda. Mmwe kyemuva mulema okubiwulira, kubanga temuli ba Katonda.” Abayudaaya ne baddamu Yesu nti: “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamariya, era oliko omwoyo omubi?” Yesu n'addamu nti: “Nze siriiko mwoyo mubi, wabula nzisaamu Kitange ekitiibwa, naye mmwe temunzisaamu kitiibwa. Nze sinoonya kitiibwa kyange. Akinoonya, era alisala omusango waali. Mazima ddala mbagamba nti buli akwata ekigambo kyange talifa emirembe n'emirembe.” Abayudaaya ne bamugamba nti: “Kaakano tutegeeredde ddala ng'oliko omwoyo omubi. Aburahamu yafa, n'abalanzi baafa. Ate ggwe ogamba nti: ‘Buli akwata ekigambo kyange, talifa emirembe n'emirembe.’ Ggwe mukulu okusinga jjajjaffe Aburahamu eyafa? Abalanzi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?” Yesu n'addamu nti: “Singa nze neegulumiza, ekitiibwa kyange tekyandibaddemu kantu. Angulumiza ye Kitange, mmwe gwe mugamba nti ye Katonda wammwe. Sso temumumanyi, kyokka nze mmumanyi bulungi. Era singa ŋŋamba nti: ‘Simumanyi,’ nandibadde mulimba nga mmwe. Nze mmumanyi, era nkwata ekigambo kye. Kitammwe Aburahamu yajjula essanyu olw'okusuubira okulaba olunaku lwange. Yalulaba, n'asanyuka.” Awo Abayudaaya ne bamugamba nti: “Ggwe atannaweza myaka makumi ataano, ggwe walaba Aburahamu?” Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti Aburahamu yali tannabaawo, nga Nze wendi. Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka, n'afuluma mu Ssinzizo. Yesu bwe yali ng'ayitawo, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe. Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, ono okuzaalibwa nga muzibe, ani yayonoona, ono yennyini, oba bazadde be?” Yesu n'addamu nti: “Ono teyayonoona, wadde abazadde be, wabula yazaalibwa nga muzibe, eby'amaanyi Katonda by'akola biryoke biragibwe ku ye. Ffe tuteekwa okukola emirimu gy'oyo eyantuma, ng'obudde bukyali misana. Ekiro kijja, omuntu ky'atayinza kukoleramu. Nga nkyali ku nsi, ndi kitangaala ekigyakira.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'asiiga muzibe ettaka eryo ku maaso, n'amugamba nti: “Genda onaabe mu kidiba ky'e Silowaamu” (ekitegeeza “Eyatumibwa”). Awo omuntu oyo n'agenda, n'anaaba, n'adda ng'alaba. Ab'omuliraano n'abalala abaamulabanga ng'asabiriza, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyatuulanga n'asabiriza?” Abamu ne bagamba nti: “Ye wuuyo.” Abalala ne bagamba nti: “Nedda, amufaanana bufaananyi.” Ye n'agamba nti: “Ye nze.” Ne bamubuuza nti: “Kale amaaso go gaazibuka gatya?” Ye n'addamu nti: “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'alinsiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti: ‘Genda ku Silowaamu onaabe.’ Ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.” Ne bamubuuza nti: “Ali ludda wa oyo?” N'addamu nti: “Simanyi.” Awo eyali muzibe ne bamutwala eri Abafarisaayo. Olunaku olwo, Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'azibula omuntu oyo amaaso, lwali lwa Sabbaato. Awo Abafarisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo nga bwe yazibuka amaaso. N'abagamba nti: “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.” Abafarisaayo abamu ne bagamba nti: “Omuntu oyo eyakola ekyo tayinza kuba nga yava wa Katonda, kubanga takwata tteeka lya Sabbaato.” Naye abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola ebyewuunyo ebyenkanidde awo?” Ne wabaawo obutakkiriziganya mu bo. Awo eyali muzibe ne baddamu okumubuuza nti: “Oyo nga bwe yakuzibula amaaso, ggwe omuyita otya?” Ye n'addamu nti: “Mulanzi.” Naye Abayudaaya ne batakkiriza ng'omuntu oyo yali muzibe, oluvannyuma n'asobola okulaba, okutuusa lwe baayita bazadde be, ne bababuuza nti: “Ono ye mwana wammwe, gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe? Kale kaakano kiki ekimusobozesezza okulaba?” Abazadde be ne baddamu nti: “Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe. Naye tetumanyi kimusobozesezza kulaba kaakano, era eyamuzibula amaaso, ffe tetumumanyi. Mumubuuze, muntu mukulu, aneeyogerera.” Bazadde be baayogera bwe batyo lwa kutya Bayudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamaze okukkaanya nti buli muntu ayatula nti Yesu ye Kristo, wa kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. Bazadde be kyebaava bagamba nti: “Muntu mukulu, mubuuze ye.” Omulundi ogwokubiri ne bayita oyo eyali muzibe, ne bamugamba nti: “Gulumiza Katonda, oyogere amazima. Ffe tumanyi ng'omuntu oyo mwonoonyi.” Ye n'addamu nti: “Oba mwonoonyi, simanyi. Kye mmanyi, nali muzibe, naye kaakano ndaba.” Ne bamubuuza nti: “Kiki kye yakukolako? Yakuzibula atya amaaso?” N'abaddamu nti: “Nababuulidde dda ne mutawuliriza. Kiki ate ekibaagaza okuwulira omulundi ogwokubiri? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” Ne bamuvuma, era ne bagamba nti: “Ggwe muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa. Naye oyo tetumanyi gy'ava.” Omuntu ono n'abaddamu nti: “Kino kitalo, mmwe obutamanya gy'ava, sso nga yanzibula amaaso! Tumanyi nga Katonda aboonoonyi tabawulira, wabula awulira abo abamussaamu ekitiibwa, era abakola by'ayagala. Okuva edda n'edda tewawulirwanga yali azibudde maaso ga muntu yazaalibwa nga muzibe. Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kintu na kimu.” Ne bamugamba nti: “Ggwe eyazaalibwa era eyakulira mu bibi, ggwe oyigiriza ffe?” Ne bamusindiikiriza ebweru. Yesu n'awulira nga bamusindiikirizza ebweru. Bwe yamusanga n'amugamba nti: “Ggwe okkiriza Omwana w'Omuntu?” Ye n'amuddamu nti: “Ssebo, ye ani mmukkirize?” Yesu n'amugamba nti: “Omulabye! Ye wuuyo ayogera naawe.” Ye n'agamba nti: “Mukama wange, nzikiriza.” N'asinza Yesu. Yesu n'agamba nti: “Najja ku nsi okusala omusango, ababadde batalaba balabe, ate ababadde balaba, babe bamuzibe.” Abafarisaayo abamu abaali awo ne Yesu, ne bawulira ng'ayogera bw'atyo, ne bamubuuza nti: “Kwe kugamba naffe tuli bamuzibe?” Yesu n'abagamba nti: “Singa mubadde bamuzibe, temwandibadde na kibi. Naye kaakano nga bwe mugamba nti: ‘Tulaba’, ekibi kyammwe kibasigalako.” Yesu n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. Oyo ayita mu mulyango ye musumba w'endiga. Omuggazi amuggulirawo, n'endiga ziwulira eddoboozi lye. Endiga ze aziyita amannya, n'azifulumya ebweru. Bw'amala okuzifulumya, azikulembera, ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. Omulala tezimugoberera, wabula zidduka mudduke, kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” Yesu yabagerera olugero olwo, naye bo ne batategeera ky'agambye. Awo Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti nze mulyango gw'endiga. Abalala bonna abansooka okujja babbi era banyazi, naye endiga tezaabawuliriza. Nze mulyango. Buli ayingirira mu Nze aliba bulungi. Aliyingira, n'afuluma, n'aliisibwa mu ddundiro. Omubbi ajjirira kubba, na kutta, na kuzikiriza. Nze najja, abantu balyoke babe n'obulamu, era babe nabwo nga bujjuvu. “Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga. Oyo alundira empeera, atali musumba era atali nnannyini ndiga, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka n'adduka, omusege ne guzirumba, ne guzisaasaanya. Adduka, kubanga alundira mpeera. Endiga tazifaako. “Nze musumba omulungi. Ntegeera endiga zange, era n'endiga zange zintegeera. Nga Kitange bw'antegeera, era nange bwe ntyo bwe ntegeera Kitange, era mpaayo obulamu bwange okukuuma endiga zange. Nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino. Nteekwa nazo okuzireeta. Ziriwulira eddoboozi lyange, era waliba ekisibo kimu n'omusumba omu. “Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. Tewali abunzigyako, nze mbuwaayo nzennyini. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddiza. Ekyo Kitange kye yandagira okukola.” Empaka ne zisituka nate mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo. Bangi ku bo ne bagamba nti: “Aliko omwoyo omubi, era alaluse. Lwaki mumuwuliriza?” Abalala ne bagamba nti: “Ebigambo bino si bya muntu aliko mwoyo mubi. Omwoyo omubi guyinza okuzibula amaaso ga muzibe?” Mu Yerusaalemu, yali mbaga ey'Okutukuza Essinzizo, era bwali budde bwa butiti. Yesu yali atambulatambula mu kisasi kya Solomooni mu Ssinzizo. Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti: “Olituusa ddi okutuleka mu kubuusabuusa? Tubuulire oba nga ggwe Kristo.” Yesu n'abaddamu nti: “Nababuulira dda, naye temukkiriza. Ebyo bye nkola mu buyinza bwa Kitange, bye binjogerera. Naye mmwe temukkiriza, kubanga temuli ndiga zange. Endiga zange ziwuliriza eddoboozi lyange. Nze nzitegeera, era zingoberera. Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezirizikirira emirembe n'emirembe. Tewali n'omu ayinza kuzinnyagako. Kitange eyazimpa, ye asinga bonna obuyinza, era tewali ayinza kuzimunyagako. Nze ne Kitange tuli omu.” Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okukuba Yesu. Ye n'abagamba nti: “Mwalaba ebirungi bingi Kitange bye yansobozesa okukola. Kiruwa ku byo kye musinziirako okunkuba amayinja?” Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tetukukuba mayinja lwa birungi by'okola, naye lwa kuvvoola Katonda, era kubanga ggwe omuntu obuntu, weefuula Katonda.” Yesu n'abaddamu nti: “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Katonda yagamba nti: ‘Muli balubaale?’ Katonda, abo abaaweebwa ekigambo kye, yabayita balubaale, ate ng'ebyawandiikibwa bisigala nga bya mazima bulijjo. Nze, Kitange yantukuza, n'antuma mu nsi. Kale lwaki mugamba nti nzivoola Katonda, kubanga ŋŋambye nti ndi Mwana wa Katonda? Oba nga sikola ebyo Kitange by'ayagala nkole, temunzikiriza. Naye oba nga mbikola, newaakubadde Nze temunzikiriza, waakiri mukkirize ebyo bye nkola, mulyoke mumanye era mutegeere nga Kitange ali mu Nze, nga nange ndi mu Kitange.” Ne bagezaako nate okumukwata, kyokka n'abasumattuka. N'agenda nate emitala w'Omugga Yorudaani, mu kifo Yowanne gye yali olubereberye ng'abatiza. N'abeera eyo. Abantu bangi ne bajja gy'ali, ne bagamba nti: “Yowanne teyakola byewuunyo, kyokka byonna Yowanne bye yayogera ku ono bya mazima.” Bangi abaali eyo ne bamukkiriza Awo omuntu ayitibwa Laazaro, eyali e Betaniya, n'alwala. Betaniya kye kibuga Mariya ne muganda we Marita mwe baali. Mariya oyo, ye yasiiga Mukama waffe omuzigo ogw'akawoowo ku bigere, n'abisiimuuza enviiri ze, era ye yali mwannyina wa Laazaro omulwadde. Bannyina ba Laazaro abo, ne batumira Yesu nga bagamba nti: “Ssebo, mukwano gwo alwadde.” Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Ekigendereddwa mu bulwadde buno, si kufa, wabula kitiibwa kya Katonda, era Omwana wa Katonda bujja kumuweesa ekitiibwa.” Yesu yali mukwano gwa Laazaro ne Marita era ne Mariya. Bwe yawulira nga Laazaro alwadde, gye yali n'asigalayo ate ennaku endala ssatu. Oluvannyuma n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.” Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Muyigiriza, Abayudaaya baali baagala kukukuba mayinja, ate eyo gy'oyagala okudda?” Yesu n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziba kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno. Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga taba na kitangaala.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'abagamba nti: “Mukwano gwaffe Laazaro yeebase, wabula ŋŋenda okumuzuukusa.” Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.” Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaro, naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo. Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti: “Laazaro afudde. Ku lw'obulungi bwammwe nsanyuse kubanga saaliyo, n'olwekyo mujja kukkiriza. Kale tugende gy'ali.” Awo Tomasi ayitibwa Omulongo, n'agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende tufiire wamu naye.” Yesu bwe yatuukayo, n'asanga nga Laazaro amaze ennaku nnya mu ntaana. Betaniya kyali kumpi ne Yerusaalemu, kilomita nga ssatu. Abayudaaya bangi, baali bazze ewa Marita ne Mariya okubakubagiza olw'okufiirwa mwannyinaabwe. Marita bwe yawulira nti Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana, Mariya ye ng'ali mu nnyumba. Marita n'agamba Yesu nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde! Naye mmanyi nti ne kaakano, byonna Katonda by'onoomusaba, anaabikuwa.” Yesu n'amugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Marita n'amugamba nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira okw'olunaku olw'enkomerero.” Yesu n'amugamba nti: “Nze kuzuukira, era nze bulamu. Anzikiriza, ne bw'afa, aliba mulamu. Era buli mulamu anzikiriza, talifa emirembe n'emirembe. Ekyo okikkiriza?” Ye n'amuddamu nti: “Weewaawo Ssebo, nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ow'okujja mu nsi.” Marita bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'ayita muganda we Mariya, n'amugamba mu kyama nti: “Omuyigiriza azze, akuyita.” Mariya bwe yawulira, n'asituka mangu, n'agenda okusisinkana Yesu. Yesu yali tannatuuka mu kibuga, ng'akyali mu kifo Marita kye yamusangamu. Awo Abayudaaya abaali ne Mariya mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti alaga ku ntaana, akaabire eyo. Awo Mariya bwe yatuuka awali Yesu, n'amulaba, n'agwa kumpi n'ebigere bye, n'amugamba nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde!” Yesu bwe yalaba Mariya ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nabo nga bakaaba, n'anyolwa mu mutima, n'ajjula obuyinike, n'ababuuza nti: “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti: “Ssebo, jjangu olabeyo.” Yesu n'akaaba amaziga. Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Mulabe nga bw'abadde amwagala!” Naye abamu ku bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, teyandiyinzizza kubaako ky'akola, Laazaro n'atafa?” Awo Yesu n'addamu okujjula obuyinike, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eggaliddwawo n'ejjinja. Yesu n'agamba nti: “Muggyeewo ejjinja.” Marita mwannyina w'omufu, n'agamba Yesu nti: “Ssebo, kaakano awunya, kubanga amaze ennaku nnya!” Yesu n'amugamba nti: “Sikugambye nti bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” Ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde. Nze mmanyi ng'ompulira bulijjo, naye njogedde olw'abantu abali wano, balyoke bakkirize nga ggwe wantuma.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Laazaro, fuluma ojje!” Eyali afudde n'avaayo ng'amagulu ge n'emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n'ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n'abagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.” Awo bangi mu Bayudaaya abaali bazze ewa Mariya, bwe baalaba Yesu ky'akoze, ne bamukkiriza. Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafarisaayo, ne bababuulira Yesu ky'akoze. Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti: “Tukole ki? Omuntu ono akola ebyamagero bingi. Bwe tumuleka bwe tutyo, bonna bajja kumukkiriza, n'Abarooma balijja ne bazikiriza ekibuga kyaffe n'eggwanga lyaffe!” Awo omu ku bo, Kayaafa, eyali Ssaabakabona mu mwaka ogwo, n'abagamba nti: “Mmwe temuliiko kye mumanyi. Temulaba nti kibagasa omuntu omu okufiirira abantu, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?” Ekyo teyakyogera ku bubwe, wabula nga bwe yali Ssaabakabona omwaka ogwo, yalanga nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo, sso si ggwanga eryo lyokka, naye n'okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana. Okuva ku lunaku olwo, ne bakola olukwe okutta Yesu. N'olwekyo Yesu n'atatambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n'avaayo, n'alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efurayimu, n'abeera eyo n'abayigirizwa. Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, bangi ne bava mu byalo, ne bambuka e Yerusaalemu, okukola omukolo ogw'okwetukuza, ng'Embaga tennatuuka. Ne banoonya Yesu. Era nga bakuŋŋaanidde mu Ssinzizo, ne beebuuzaganya nti: “Mulowooza mutya? Tajje ku Mbaga?” Bakabona abakulu n'Abafarisaayo baali balagidde nti bwe wabaawo amanyi Yesu w'ali, ababuulire, balyoke bamukwate. Bwe waali nga wakyabulayo ennaku mukaaga, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke, Yesu n'ajja e Betaniya, awaali Laazaro, gwe yazuukiza. Ne bamufumbirayo ekyeggulo, Marita n'aweereza. Laazaro yali omu ku baali batudde ne Yesu okulya. Awo Mariya n'addira eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agusiiga ku bigere bya Yesu, n'abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba n'ejjula akawoowo ak'omuzigo ogwo. Naye Yuda Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti: “Lwaki omuzigo guno tegutundiddwa denaari ebikumi bisatu, ne zigabirwa abaavu?” Yayogera ekyo, si lwa kulumirwa baavu, wabula kubanga yali mubbi. Ye yakwatanga ensawo, era bye baateekangamu, ng'abitwala. Yesu n'agamba nti: “Omukazi mumuleke, omuzigo aguterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange. Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.” Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya, ne kitegeera nti Yesu ali Betaniya. Ne kijja, si lwa Yesu yekka, naye n'okulaba Laazaro, Yesu gwe yazuukiza. Bakabona abakulu ne basala amagezi okutta ne Laazaro, kubanga ku lulwe, Abayudaaya bangi baabavangako, ne bakkiriza Yesu. Ku lunaku olwaddirira, abantu abangi abaali bazze ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemu, ne bakwata amatabi g'enkindu, ne bagenda okumusisinkana, ne baleekaana nti: “Mukama atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa. Ye Kabaka wa Yisirayeli.” Awo Yesu n'asanga endogoyi, n'agyebagalako, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Mmwe abantu b'e Siyooni, temutya. Laba, Kabaka wammwe ajja, nga yeebagadde omwana gw'endogoyi.” Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira, ng'ebyo byawandiikibwa nga bifa ku ye, era nga baabimukolera. Ekibiina ky'abantu ekyaliwo nga Yesu ayita Laazaro okuva mu ntaana n'amuzuukiza, kyanyumya ebibaddewo. Abantu bangi kyebaava bajja okumusisinkana, kubanga baali bawulidde nga yakola ekyewuunyo ekyo. Awo Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe bwe tulemeddwa! Ensi yonna emusenze!” Mu abo abaayambuka e Yerusaalemu, mu budde obw'Embaga okusinza Katonda, mwalimu Abayonaani abamu. Bano ne bajja eri Filipo, eyava e Betusayida eky'omu Galilaaya, ne bamusaba nti: “Ssebo, twagala okulaba Yesu.” Filipo n'agenda n'abuulira Andereya, bombi ne bategeeza Yesu. Yesu n'abaddamu nti: “Ekiseera kituuse Omwana w'Omuntu agulumizibwe. Mazima ddala mbagamba nti empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka. Naye bw'efa, ebala ebibala bingi. Buli ayagala obulamu bwe, alibufiirwa. Naye akyawa obulamu bwe mu nsi muno, alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. Oyo ampeereza, angoberere. Nze we ndi, n'omuweereza wange w'anaabeeranga. Kitange aliwa ekitiibwa oyo ampeereza. “Kaakano omutima gwange gweraliikiridde, era njogere ki? Ŋŋambe nti: ‘Kitange, mponya akaseera kano?’ Naye ate ekyandeeta, kwe kuyita mu kaseera kano ak'okubonaabona! Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti: “Naligulumiza, era ndirigulumiza nate.” Ekibiina ky'abantu, ekyali kiyimiridde awo bwe kyawulira, ne kigamba nti: “Laddu ye bwatuse!” Abalala ne bagamba nti: “Malayika ayogedde naye.” Yesu n'abagamba nti: “Eddoboozi lino terizze ku lwange, wabula ku lwammwe. Kaakano ensi ejja kusalirwa omusango, kaakano omufuzi w'ensi eno, ajja kugoberwa ebweru. Ate nze bwe ndisitulibwa ku nsi, ndisika bonna ne mbazza gye ndi.” Ekyo yakyogera, ng'ategeeza enfa gy'alifaamu. Awo ekibiina ky'abantu ne kimuddamu nti: “Ffe mu Mateeka twawulira nti Kristo wa kubeerawo emirembe n'emirembe. Ate ggwe lwaki ogamba nti Omwana w'Omuntu ateekwa okusitulibwa? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?” Yesu n'abagamba nti: “Ekitangaala kinaabeera nammwe okumala ekiseera kitono. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwatira mu kkubo, kubanga atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda. Mukkirize ekitangaala nga mukyakirina, mulyoke mube abaana b'ekitangaala.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'abeekweka. Newaakubadde yakola ebyewuunyo ebyenkanidde awo mu maaso gaabwe, era tebaamukkiriza. Ekigambo kya Yisaaya omulanzi ne kituukirira, ekigamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye tugamba? Era Mukama yalaga ani obuyinza bwe?” Kyebaava balema okukkiriza, kubanga Yisaaya yagamba era nti: “Katonda yabaziba amaaso, n'abakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, n'emitima gyabwe gireme okutegeera, era baleme kukyuka mbawonye.” Ebyo Yisaaya yabyogera, kubanga yalaba ekitiibwa kya Yesu, n'amwogerako. Sso era bangi mu bakungu Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw'okutya Abafarisaayo, tebaakyatula, baleme okugobwa mu kkuŋŋaaniro. Baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu, okusinga ekitiibwa ekibaweebwa Katonda. Awo Yesu n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Anzikiriza, takkiriza Nze, wabula akkiriza oli eyantuma. Era alaba nze, ng'alabye oli eyantuma. Nze najja mu nsi nga ndi kitangaala, buli anzikiriza, aleme kubeera mu kizikiza. Awulira ebigambo byange n'atabikolerako, Nze simusalira musango, kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okugirokola. Agaana Nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango. Ebigambo bye nayogera bye birimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero, kubanga Nze saayogeranga ku bwange, wabula Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba, n'okwogera. Era mmanyi ng'ekiragiro kye, bwe bulamu obutaggwaawo. Kale Nze bye njogera, mbyogera nga Kitange bwe yabiŋŋamba.” Lwali lunaku olukulembera Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Yesu yamanya ng'ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno, agende eri Kitaawe. Yayagala ababe abaali mu nsi, era yabaagala okutuusiza ddala ku nkomerero. Baali balya kyaggulo. Sitaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda omwana wa Simooni Yisikaryoti, ekirowoozo eky'okulyamu Yesu olukwe. Yesu yamanya nga Kitaawe amuwadde obuyinza obujjuvu. Era yamanya nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda. Awo n'ava we yali atudde ng'alya, ne yeeggyako omunagiro gwe, n'akwata ekiremba, ne yeesiba ekimyu. N'ateeka amazzi mu bbenseni, n'atandika okunaaza abayigirizwa ebigere, n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. Awo n'atuuka ku Simooni Peetero, Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, ggwe onaaza nze ebigere?” Yesu n'amuddamu nti: “Kye nkola, ggwe kaakano tokitegeera, naye olikitegeera oluvannyuma.” Peetero n'amugamba nti: “Tolinnaaza bigere mulundi na gumu!” Yesu n'amuddamu nti: “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.” Simooni Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye n'emikono n'omutwe!” Yesu n'amugamba nti: “Anaabye omubiri, aba mulongoofu yenna, era teyeetaaga kunaaba, okuggyako okunaaba ebigere. Nammwe muli balongoofu, naye si mwenna.” Kyeyava agamba nti: “Muli balongoofu, naye si mwenna,” kubanga yamanya oyo eyali agenda okumulyamu olukwe. Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere, ne yezzaako omunagiro gwe, n'addayo n'atuula, n'abagamba nti: “Kye mbakoze mukitegedde? Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe. Mwogera kituufu, kubanga ddala bwe ndi. Kale oba nga nze Mukama wammwe, era Omuyigiriza wammwe mbanaazizza ebigere, nammwe kibagwanidde buli omu okunaazanga munne ebigere, kubanga mbawadde ekyokulabirako. Nga bwe nkoze ku mmwe, nammwe bwe mubanga mukola. Mazima ddala mbagamba nti omuddu takira mukama we, n'omutume tasinga yamutuma. Oba nga ebyo mubimanyi, muli ba mukisa bwe mubituukiriza. “Soogera ku mmwe mwenna. Nze mmanyi be nalondamu. Naye ekyawandiikibwa kiteekwa okutuukirira nti: ‘Alya ku mmere yange, anneefuukidde.’ Kino nkibabuulira kaakano nga tekinnabaawo, bwe kinaamala okubaawo, mulyoke mukkirize nti Ye Nze. Mazima ddala mbagamba nti ayaniriza buli gwe ntuma, aba ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, aba ayanirizza oli eyantuma.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'anyolwa mu mwoyo, n'ayatula, n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.” Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyi gw'ayogerako. Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde ng'aliraanye ekifuba kya Yesu. Simooni Peetero n'amuwenya, n'amugamba nti: “Tubuulire gw'ayogerako.” Ye bwe yaddayo okugalamira ng'aliraanye ekifuba kya Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, gw'oyogerako ye ani?” Yesu n'addamu nti: “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa, nga ye wuuyo.” Awo n'akwata ekitole, n'akikoza, n'akiwa Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti. Yuda bwe yamala okufuna ekitole ekyo, Sitaani n'amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti: “Ky'okola, kikole mangu!” Ku baali balya, tewali n'omu yategeera kyeyava amugamba bw'atyo. Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensawo, Yesu amugambye nti: “Genda ogule bye twetaaga ku Mbaga”, oba nti: “Baako ky'ogabira abaavu.” Yuda bwe yamala okufuna ekitole, amangwago n'afuluma ebweru. Obudde bwali bwa kiro. Yuda bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti: “Kaakano Omwana w'Omuntu agulumiziddwa, ne Katonda agulumiziddwa mu ye. Era oba nga Katonda agulumiziddwa mu ye, ne Katonda anaagulumiza Omwana w'Omuntu mu ye yennyini, era anaamugulumiza amangwago. Baana bange, akaseera katono ke nkyali awamu nammwe. Mulinnoonya, naye nga bwe nagamba Abayudaaya nti: ‘Nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano. “Mbawa ekiragiro ekiggya, mwagalanenga. Nga nze bwe nabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalananga. Bwe munaayagalananga, bonna kwe banaategeereranga, nga muli bayigirizwa bange.” Simooni Peetero n'amubuuza nti: “Mukama wange, ogenda wa?” Yesu n'addamu nti: “Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano, naye olingoberera gye bujja.” Peetero n'amubuuza nti: “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.” Yesu n'addamu nti: “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Mazima ddala nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” Yesu n'agamba nti: “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkirize Katonda, era nange munzikirize. Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi, era ŋŋenda okubategekera ekifo. Singa si bwe kiri, sandibagambye bwe ntyo. Bwe ndimala okugenda ne mbategekera ekifo, ndikomawo ne mbatwala gye ndi, nammwe mubeere eyo, nze gye mbeera. Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.” Tomasi n'amugamba nti: “Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda. Tuyinza tutya okumanya ekkubo erigendayo?” Yesu n'amuddamu nti: “Nze kkubo, nze mazima, era nze bulamu. Tewali atuuka eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze. Singa nze mummanyi, ne Kitange mwandimumanye. Era okuva kati mumumanyi, era mumulabye.” Filipo n'amugamba nti: “Mukama waffe, tulage ku Kitaawo, kinaatumala.” Yesu n'amuddamu nti: “Kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna, tontegeeranga, Filipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange. Ate lwaki ogamba nti: ‘Tulage ku Kitaawo’? Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, era nga Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba mmwe, sibyogera ku bwange. Kitange ali mu nze, ye akola yennyini. “Munzikirize nti nze ndi mu Kitange, era nti ne Kitange ali mu nze. Oba si ekyo, munzikirize olw'ebikolwa byennyini bye nkola. Mazima ddala mbagamba nti anzikiriza, alikola bye nkola, era alikola n'ebisingawo, kubanga nze ŋŋenda eri Kitange. Era buli kye munaasabanga mu linnya lyange, nnaakikolanga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu mu linnya lyange, nnaakikolanga. “Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. Era ndisaba Kitange, n'abawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. Oyo ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ensi gw'eteyinza kukkiriza kufuna, kubanga temulaba, era temumanyi. Mmwe mumumanyi, kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe. “Siribaleka nga bamulekwa. Ndikomawo gye muli. Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga nze ndi mulamu, nammwe muliba balamu. Ku lunaku olwo mulitegeera nga nze ndi mu Kitange, era nga nammwe muli mu nze, ate nga nange ndi mu mmwe. “Awulira ebiragiro byange n'abikwata, oyo ye anjagala. Kitange anaayagalanga oyo anjagala, nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.” Yuda, atali oli Yisikaryoti, n'amugamba nti: “Mukama waffe, ekyo kiri kitya, ggwe okulabikira ffe, n'otolabikira nsi?” Yesu n'amuddamu nti: “Buli anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange, era anaayagalibwanga Kitange. Tulijja gy'ali ne tubeera mu ye. Atanjagala, takwata bigambo byange. Ate ekigambo kye muwulira, si kyange, wabula kya Kitange eyantuma. “Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. Naye Omubeezi, ye Mwoyo Mutuukirivu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, alibayigiriza byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba. “Mbalekera emirembe. Mbawa emirembe gyange. Sigibawadde ng'ensi bw'ewa. Temweraliikiriranga era temutyanga. Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era ndikomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse nga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange ansinga ekitiibwa. Ekyo nkibabuulidde kaakano nga tekinnabaawo, bwe kiribaawo mulyoke mukkirize. Sikyayogedde bingi nammwe, kubanga omufuzi w'ensi eno ajja, kyokka tanninaako buyinza. Naye nkola nga Kitange bwe yandagira, ensi eryoke emanye nti Kitange mmwagala. “Musituke, tuve wano. “Nze muzabbibu gwennyini, ate Kitange ye mulimi. Buli ttabi eriri mu Nze eritabala bibala aliggyawo, ate buli ttabi eribala ebibala, alisalira liryoke lyeyongere okubala ebibala. Kaakano mmwe muli balongoofu olw'ebigambo bye mbagambye. Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe kityo nammwe, temuyinza kubala bibala, bwe mutabeera mu nze. “Nze muzabbibu, mmwe matabi. Abeera mu nze, nange ne mbeera mu ye, abala ebibala bingi. Nze we ssiri, temuliiko kye muyinza kukola. Atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, era akala. Amatabi ng'ago, bagakuŋŋaanya ne bagasuula mu muliro, ne gookebwa. “Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange ne bibeera mu mmwe, musabenga kyonna kye mwagala, kinaabakolerwanga. Bwe mubala ebibala ebingi, ne mufuukira ddala bayigirizwa bange, Kitange aweebwa ekitiibwa. Nga Kitange bw'anjagala, nange bwe mbaagala mmwe. Mubeerenga mu kwagala kwange. Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe. “Ebyo mbibagambye, essanyu lye nnina liryoke libeere ne mu mmwe, era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. Ekiragiro kyange kye kino, mwagalanenga, nga nze bwe nabaagala mmwe. Tewali alina kwagala okusinga okw'oyo awaayo obulamu bwe olw'abo b'ayagala. “Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya mukama we by'akola. Naye mbayita mikwano gyange, kubanga byonna bye nawulira eri Kitange, mbibategeezezza mmwe. “Si mmwe mwannonda nze, wabula nze nabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, era ebibala byammwe biremenga kuggwaawo. Era buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga. Kye mbalagira kye kino, mwagalanenga. “Ensi bw'ebakyawanga mmwe, mumanye nga yasooka kukyawa nze. Singa mubadde ba nsi, ensi yandibaagadde mmwe ng'abaayo. Naye kubanga nze nabalonda, temukyali ba nsi. Ensi kyeva ebakyawa. Mujjukire ekigambo kye nabagamba nti omuddu tasinga mukama we. Oba nga nze banjigganya, nammwe banaabayigganyanga. Oba nga baakwata ebigambo byange, n'ebyammwe banaabikwatanga. Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'okubeera nze, kubanga eyantuma tebamumanyi. “Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi. Naye kaakano tewali kibaggyako musango gwa kibi kyabwe. Ankyawa, akyawa ne Kitange. Singa saabakoleramu bikolwa ebitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi. Naye kaakano babirabye, ne bankyawa nze, ne Kitange. Naye ekyawandiikibwa mu Mateeka gaabwe nti: ‘Bankyayira bwereere’, kiteekwa okutuukirira. “Bwe ndigenda eri Kitange, ndibatumira mmwe Omubeezi, ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ava mu Kitange. Ye bw'alijja, aliba mujulirwa wange. Era nammwe muli bajulirwa bange, kubanga mubadde nange okuva olubereberye. “Ebyo mbibabuulidde, muleme kuterebuka. Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro. Era ekiseera kirituuka, buli abatta n'alowooza nti aweereza Katonda. Ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamumanyi, era nange tebammanyi. Naye ebyo mbibabuulidde, ekiseera kyabyo bwe kirituuka, mulyoke mujjukire nga nze nabibabuulira. “Mu kusooka, ebyo saabibabuulira, kubanga nali nkyali wamu nammwe. Naye kaakano ŋŋenda eri oyo eyantuma, era ku mmwe tewali ambuuza nti: ‘Ogenda wa?’ Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku. Naye mbategeeza amazima nti kibagasa nze okugenda, kubanga bwe sigenda, Omubeezi talijja gye muli. Kyokka bwe ŋŋenda, ndimubatumira. Ye bw'alijja, alirumiriza abantu b'ensi nti bawubwa ku bikwata ku kibi, ne ku butuukirivu, ne ku kusala omusango; ku bikwata ku kibi, kubanga tebanzikiriza, ku bikwata ku butuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, era munaaba temukyandaba; ku bikwata ku kusala omusango, kubanga omufuzi w'ensi eno asaliddwa omusango. “Nkyalina bingi eby'okubabuulira, naye kaakano temubisobola. Naye Mwoyo amanyisa abantu amazima bw'alijja, anaabaluŋŋamyanga mu by'amazima byonna, kubanga taayogerenga ku bubwe, wabula anaayogeranga by'awulira, era anaababuuliranga ebigenda okujja. Oyo anangulumizanga, kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe. Byonna byonna Kitange by'alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe. “Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono, ne mundaba.” Abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Kiki ekyo ky'atugamba nti: ‘Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba,’ era nti: ‘Ŋŋenda eri Kitange?’ ” Ne beebuuza nti: “Kiki ekyo ky'agamba nti ‘Ebbanga ttono?’ Tetumanyi ky'agamba.” Yesu n'amanya nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti: “Kino kye mwebuuzaganyaako, kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba? Mazima ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka. Mmwe mulinakuwala, naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu. “Omukazi ng'azaala, aba mu bulumi bungi, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw'amala okuzaalibwa, omukazi nga takyajjukira bulumi olw'essanyu ery'okuzaala omuntu ku nsi. Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndibalaba, nate emitima gyammwe ne gisanyuka, era essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako. “Ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Mazima ddala mbagamba nti Kitange alibawa buli kye mulisaba mu linnya lyange. Okutuusa kati mubadde temusaba mu linnya lyange. Musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire. “Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka, nga sikyayogera nammwe mu ngero, wabula nga mbabuulira lwatu ebifa ku Kitange. Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange. Sso sibagamba nti ndibasabira eri Kitange. Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagala era mukkirizza nga nava eri Katonda. Nava eri Kitange ne nzija ku nsi. Kaakano ndeka ensi, ŋŋenda eri Kitange.” Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Kaakano oyogera lwatu, toyogera mu ngero. Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, era nga tekyetaagisa muntu n'omu kukubuuza kibuuzo. Kyetuva tukkiriza nga wava wa Katonda.” Yesu n'abaddamu nti: “Kaakano mukkiriza? Laba, ekiseera kijja, era kimaze n'okutuuka, musaasaane, buli muntu adde ewuwe, mundeke bwomu. Sso siri bwomu, kubanga Kitange ali wamu nange. Ebyo mbibabuulidde, mulyoke mube n'emirembe mu nze. Ku nsi mujja kubonaabona, naye mugume, nze mpangudde ensi.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'agamba nti: “Kitange, ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, Omwana wo alyoke akugulumize, kubanga wamuwa obuyinza ku bantu bonna, alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. Obulamu obutaggwaawo bwe buno, abantu bonna okukumanya ggwe Katonda omu wekka ow'amazima, n'okumanya Yesu Kristo, gwe watuma. Nze nkugulumizza ku nsi. Mmalirizza omulimu gwe wampa okukola. Kitange, kaakano mpa ekitiibwa mu maaso go, kye nalina ng'ensi tennabaawo. “Nkumanyisizza mu bantu be wampa ng'obaggya mu nsi. Baali babo, n'obampa. Bakutte ekigambo kyo. Kaakano bamanyi nga byonna bye wampa byava gy'oli, kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde, ne babikkiriza, ne bamanyira ddala nga nava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. “Nze mbasabira abo. Sisabira nsi, wabula abo be wampa, kubanga babo. Byonna bye nnina bibyo, n'ebibyo byange, era ngulumizibwa mu bo. Kaakano nzija gy'oli. Sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi. Kitange omutuukirivu, bakuumenga mu buyinza bwo bwe wampa, babeerenga bumu nga ffe. “Bwe nali nabo, nabakuuma mu buyinza bwo bwe wampa, ne kutabula n'omu ku bo, wabula oyo eyali ateekwa okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire. Naye kaakano nzija gy'oli, era ebyo mbyogerera mu nsi, essanyu lyange liryoke libajjule. “Nabawa ekigambo kyo, ensi n'ebakyawa, kubanga si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. Sikusaba kubaggya mu nsi, wabula bakuumenga, obawonye Omubi. Si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. Batukuze mu mazima. Ekigambo kyo ge mazima. Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe mbatuma mu nsi. Nze nneewaayo gy'oli ku lwabwe, nabo bennyini balyoke beeweereyo ddala gy'oli. “Sisabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'obubaka bwa bano. Bonna babeerenga bumu. Kitange, nga ggwe bw'oli mu nze, nange bwe ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. Era ekitiibwa kye wampa nkibawadde, balyoke babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu, nze mu bo, naawe mu nze, balyoke babeerere ddala bumu, ensi etegeere nga ggwe wantuma, era ng'obaagala nga bw'onjagala. “Kitange, be wampa, njagala we ndi, nabo we baba babeeranga, balabe ekitiibwa kyange kye wampa. Wanjagala ng'ensi tennatondebwa. Kitange omutuukirivu, ensi teyakumanya, naye nze nkumanyi, na bano bamanyi nga ggwe wantuma. Era nabamanyisa erinnya lyo, era nja kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagala, kubeere mu bo, nange mbeere mu bo.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma n'abayigirizwa be, ne balaga emitala w'akagga Kedurooni awaali ennimiro, n'agiyingiramu awamu n'abayigirizwa be. Ne Yuda, eyamulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo, kubanga emirundi mingi, Yesu yagendangayo n'abayigirizwa be. Awo Yuda n'ajja mu nnimiro ng'ali n'ekibinja ky'abaserikale, n'abakuumi b'Essinzizo, abaatumibwa bakabona abakulu n'Abafarisaayo. Baalina ettaala n'emimuli, n'ebyokulwanyisa. Awo Yesu ng'amanyi byonna ebigenda okumujjira, n'avaayo, n'abagamba nti: “Munoonya ani?” Ne bamuddamu nti: “Yesu Omunazaareeti.” Yesu n'abagamba nti: “Ye Nze.” Yuda eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. Yesu bwe yabagamba nti: “Ye Nze”, ne badda emabega ne bagwa wansi. Yesu n'ababuuza omulundi ogwokubiri nti: “Munoonya ani?” Ne bagamba nti: “Yesu Omunazaareeti.” Yesu n'addamu nti: “Mbabuulidde nti Ye Nze. Kale oba nga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” Ekigambo kye yayogera nti: “Ku abo be wampa saabuzaako n'omu,” ne kituukirira. Simooni Peetero yalina ekitala. N'akisowolayo, n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu okwa ddyo. Erinnya ly'omuddu oyo nga ye Maluko. Yesu n'agamba Peetero nti: “Ekitala kizze mu kiraato kyakyo. Ekikopo eky'okubonaabona. Kitange ky'ampadde siikinywe?” Awo ekibinja ky'abaserikale n'omuduumizi waabwe, n'abaweereza b'Abayudaaya, ne bakwata Yesu, ne bamusiba. Ne bamutwala eri Anna okusooka, kubanga ye yali kitaawe wa muka Kayaafa, eyali Ssaabakabona mu mwaka ogwo. Kayaafa oyo ye yali awadde Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira bonna. Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo yali amanyiddwa ssaabakabona, n'ayingira ne Yesu mu luggya lwa Ssaabakabona. Peetero n'asigala wabweru ku luggi. Omuyigirizwa oli omulala eyali amanyiddwa ssaabakabona, n'afuluma, n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero. Awo omuwala omuggazi w'oluggi, n'agamba Peetero nti: “Naawe oli omu ku bayigirizwa b'omuntu oyo?” Peetero n'addamu nti: “Nedda.” Abaddu n'abaweereza baali bakumye ekyoto ky'omuliro, nga bayimiridde awo boota, kubanga obudde bwali bunnyogovu. Ne Peetero yali ayimiridde nabo ng'ayota omuliro. Awo Ssaabakabona n'abuuza Yesu ku bayigirizwa be, ne ku by'ayigiriza. Yesu n'amuddamu nti: “Nze nayogeranga lwatu mu bantu, bulijjo nayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Ssinzizo, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira. Soogeranga kintu na kimu mu kyama. Lwaki obuuza nze? Buuza abo abaawulira bye nabagambanga. Bamanyi bye nayogeranga.” Yesu bwe yayogera ebyo, omu ku baweereza eyali ayimiridde okumpi naye, n'amukuba oluyi nga bw'agamba nti: “Bw'otyo bw'oddamu Ssaabakabona?” Yesu n'amuddamu nti: “Oba njogedde bubi, laga ekibi kye njogedde. Naye oba njogedde bulungi, onkubira ki?” Awo Anna n'aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa, Ssaabakabona. Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Ne bamugamba nti: “Naawe oli omu ku bayigirizwa be?” Ye ne yeegaana n'agamba nti: “Nedda.” Omu ku baddu ba ssaabakabona, era muganda w'oyo, Peetero gwe yakutulako okutu, n'agamba nti: “Nze saakulabye naye mu nnimiro?” Peetero n'addamu okwegaana. Amangwago enkoko n'ekookolima. Awo Yesu ne bamuggya ewa Kayaafa, ne bamutwala mu lubiri lw'omufuzi Omurooma. Obudde bwali bwakakya. Abayudaaya ne batayingira mu lubiri, baleme kusobya mukolo gwa kwetukuza, naye basobole okulya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Awo Pilaato n'afuluma n'agenda gye bali, n'ababuuza nti: “Musango ki gwe muwawaabira omuntu ono?” Ne bamuddamu nti: “Singa abadde talina musango gwe yazza, tetwandimuleese gy'oli.” Pilaato n'abagamba nti: “Kale nno mmwe mumutwale, mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali.” Abayudaaya ne bamugamba nti: “Ffe tetukkirizibwa kutta muntu n'omu.” Ekyo Yesu kye yayogera, ng'alanga engeri gye yali agenda okufaamu, ne kituukirira. Awo Pilaato n'addayo mu lubiri, n'ayita Yesu, n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'addamu nti: “Ekyo okyogedde ku bubwo, oba balala be bakubuulidde ebifa ku nze?” Pilaato n'addamu nti: “Nze ndi Muyudaaya? Abantu b'eggwanga lyo, ne bakabona baabwe abakulu, be bakuleese gye ndi. Okoze ki?” Yesu n'addamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa ku nsi kuno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa ku nsi kuno, abantu bange bandirwanye, ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa ku nsi kuno.” Awo Pilaato n'amubuuza nti: “Kwe kugamba oli Kabaka?” Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Ndi kabaka. Nze nazaalibwa ne nzija ku nsi, nga nzijiridde kino: okumanyisa amazima. Buli ayagala amazima, awulira eddoboozi lyange.” Pilaato n'amugamba nti: “Amazima kye ki?” Pilaato bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma nate, n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti: “Siraba musango ku ye. Naye mwamanyiira, nze okubateeranga omusibe omu ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?” Awo ne baleekaana nti: “Si oyo, wabula Barabba!” Barabba oyo yali munyazi. Awo Pilaato n'atwala Yesu, n'amukuba n'embooko eriko amalobo agasuna. Abaserikale ne bawetaaweta amaggwa, ne bakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe, ne bajja w'ali, ne bagamba nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamukuba empi. Pilaato era n'afuluma ebweru, n'agamba abantu nti: “Laba, mmubaleetera ebweru, mutegeere nga siraba musango ku ye.” Awo Yesu n'afuluma ng'atikkiddwa engule ey'amaggwa, era ng'ayambadde olugoye olwa kakobe. Pilaato n'abagamba nti: “Mulabe, omuntu wuuno!” Bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti “Mukomerere ku musaalaba, mukomerere ku musaalaba!” Pilaato n'abagamba nti: “Mumutwale mmwe, mumukomerere ku musaalaba. Nze siraba musango ku ye.” Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo, ateekwa okuttibwa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.” Pilaato bwe yawulira ekyo, ne yeeyongera okutya. N'ayingira mu lubiri, n'abuuza Yesu nti: “Oli wa wa?” Kyokka Yesu n'atamuddamu. Awo Pilaato n'amugamba nti: “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta, era nga nnina obuyinza okukukomerera ku musaalaba?” Yesu n'amuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza ku nze n'akatono, singa tebwakuweebwa Katonda. N'olwekyo ampaddeyo gy'oli ye alina ekibi ekisinga.” Okuva mu kaseera ako Pilaato n'asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti: “Oyo bw'omuta, nga toli mukwano gwa Kayisaari. Buli muntu eyeefuula kabaka, awakanya Kayisaari.” Pilaato bwe yawulira ebigambo ebyo, n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebureeyi, Gabbata. Lwali lunaku lwa kuteekateeka Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez'omu ttuntu. Pilaato n'agamba Abayudaaya nti: “Kabaka wammwe wuuno!” Bo ne baleekaana nti: “Muggyeewo, muggyeewo, mukomerere ku musaalaba!” Pilaato n'ababuuza nti: “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera ku musaalaba?” Bakabona abakulu ne baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaari.” Awo Pilaato n'abawa Yesu okumukomerera ku musaalaba. Awo ne bakwata Yesu, ne bamutwala, n'afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa eky'Ekiwanga, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Golugoota. Ne bamukomerera ku musaalaba, mu kifo ekyo. Era ne bakomerera n'abalala babiri ku misaalaba, eruuyi n'eruuyi, Yesu nga ye ali wakati. Pilaato n'awandiika ekiwandiiko, n'akiteeka ku musaalaba, nga kiwandiikiddwa nti: “YESU OMUNAZAAREETI, KABAKA W'ABAYUDAAYA.” Ekifo kye baakomereramu Yesu ku musaalaba, kyali kumpi n'ekibuga. N'olwekyo Abayudaaya bangi ne basoma ekiwandiiko ekyo. Kyali kiwandiikiddwa mu Lwebureeyi, ne mu Lulattini, ne mu Luyonaani. Awo bakabona abakulu ab'Abayudaaya ne bagamba nti: “Towandiika nti: ‘Kabaka w'Abayudaaya,’ naye nti: ‘Oyo yagamba nti: Nze Kabaka w'Abayudaaya.’ ” Pilaato n'addamu nti: “Ekyo kye mpandiise, kye mpandiise.” Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu ku musaalaba, ne batwala engoye ze, ne baziteeka emiteeko ena, buli muserikale n'afunako gumu. Ne batwala n'ekkanzu ye, eyali tetungiddwa, naye ng'erukiddwa bulukibwa yonna. Abaserikale ne bagambagana nti: “Tuleme kugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo.” Kino kyabaawo, okutuukiriza ekyawandiikibwa, ekigamba nti: “Baagabana engoye zange, ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.” Abaserikale ekyo kyennyini kye baakola. Okumpi n'omusaalaba gwa Yesu, waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, Mariya muka Kuloopaasi, ne Mariya Magudaleena. Yesu bwe yalaba nnyina, era n'omuyigirizwa, ye Yesu gwe yayagalanga, ng'ayimiridde awo, n'agamba nnyina nti: “Maama, laba, omwana wo wuuyo.” Ate n'agamba omuyigirizwa nti: “Laba, nnyoko wuuyo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe. Ebyo bwe byaggwa, Yesu ng'amanyi nti kaakano byonna biwedde, olw'okwagala okutuukiriza ekyawandiikibwa, n'agamba nti: “Ennyonta ennuma.” Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu. Ne bannyika ekyangwe mu mwenge ogwo, ne bakiteeka ku kati akayitibwa yisopu, ne bakituusa ku mumwa gwe. Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge omukaatuufu, n'agamba nti: “Kiwedde.” N'akutamya omutwe, n'afa. Olunaku nga bwe lwali olw'okweteekateeka, Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba ku lwa Sabbaato, kubanga olunaku lwa Sabbaato eyo, lwali lukulu nnyo. Kyebaava basaba Pilaato, abaakomererwa ku misaalaba bamenyebwe amagulu, era bawanulweyo. Awo abaserikale ne bajja, ne bamenya amagulu ag'omubereberye, n'ag'omulala eyakomererwa ne Yesu. Bwe baatuuka ku Yesu, ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu, naye omu ku baserikale n'amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n'amazzi. Kino eyakiraba nga kibaawo ye yakyogera, nammwe mulyoke mukkirize. Ky'ayogera kya mazima, era amanyi ng'ayogera mazima. Ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti: “Talimenyebwa ggumba na limu.” Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti: “Balimulaba gwe baafumita.” Ebyo bwe byaggwa, Yosefu ow'e Arimataya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Pilaato, amukkirize okutwala omulambo gwa Yesu. Pilaato n'akkiriza. Awo Yosefu n'ajja n'agutwala. Nikodemo, olumu eyagenda eri Yesu ekiro, naye n'ajja, ng'aleese kilo ng'amakumi asatu mu ssatu ez'ebyakawoowo ebitabule, ebya mirra ne alowe. Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye enjeru wamu n'ebyakawoowo, ng'empisa y'Abayudaaya ey'okuziika bwe yali. Mu kifo, Yesu we yakomererwa ku musaalaba, waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey'empuku, eyali teziikibwangamu muntu. Nga bwe lwali olunaku olw'okweteekateeka kw'Abayudaaya, ate entaana eno nga eri kumpi, Yesu ne bamuteeka omwo. Mu makya g'olunaku olusooka mu wiiki, Mariya Magudaleena n'alaga ku ntaana, ng'obudde tebunnalaba bulungi, n'alaba ejjinja nga liggyiddwa ku mulyango, gw'entaana. N'olwekyo n'adduka, n'agenda eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala, Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti: “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era tetumanyi gye bamutadde!” Awo Peetero n'omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana. Bombi baagenda badduka nga bali wamu, wabula omuyigirizwa oli omulala n'asinga Peetero okudduka, n'amusooka ku ntaana. N'akutama, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo, kyokka n'atayingira. Olwo ne Simooni Peetero n'atuuka ng'amugoberera. N'ayingira mu ntaana, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo. N'alaba n'ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa, era nga kiteekeddwa waakyo. Olwo omuyigirizwa oli eyasooka okutuuka ku ntaana, naye n'ayingira. N'alaba, era n'akkiriza. Ddala baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Yesu ateekwa okuzuukira. Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe. Mariya Magudaleena yali ayimiridde wabweru w'entaana, ng'akaaba. Yali akyakaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana, n'alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye njeru, nga batudde, omu emitwetwe, n'omulala emirannamiro w'ekifo, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. Ne bamubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki?” Ye n'abaddamu nti: “Mukama wange bamuggyeemu, era simanyi gye bamutadde!” Bwe yamala okwogera ebyo, n'akyuka n'atunula emabega, n'alaba Yesu ng'ayimiridde awo, kyokka n'atamanya nti ye Yesu. Yesu n'amubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Mariya n'alowooza nti omuntu oyo, ye mukuumi w'ennimiro, era n'amugamba nti: “Ssebo, oba nga ggwe wamuggyeemu, mbuulira gye wamutadde, ŋŋende mmuggyeyo.” Yesu n'amugamba nti: “Mariya!” Mariya n'akyukira Yesu, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbooni!” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”). Yesu n'amugamba nti: “Tonneekwatako, kubanga sinnalinnya mu ggulu eri Kitange. Naye genda eri baganda bange, obategeeze nti: ‘Nninnya mu ggulu eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe.’ ” Mariya Magudaleena n'agenda, n'abuulira abayigirizwa nti alabye Mukama, era n'abategeeza Mukama by'amugambye. Ku lunaku olwo olusooka mu wiiki, obudde bwe bwali buwungedde, abayigirizwa we baali, enzigi zaali nsibe, olw'okutya Abayudaaya. Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka okulaba Mukama waabwe. N'abagamba nate nti: “Emirembe gibe na mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'abafuuwako omukka, n'abagamba nti: “Mufune Mwoyo Mutuukirivu, ebibi by'abantu bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa. Eby'abo bye munaagaananga okusonyiwa, abo nga tebibasonyiyiddwa.” Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Didimo (Omulongo), teyali na banne, Yesu bwe yajja. Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Tulabye Mukama waffe.” Kyokka ye n'abagamba nti: “Okuggyako nga ndabye enkovu ez'emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo, era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.” Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu ng'era bali mu nnyumba, Tomasi naye ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga nsibe, n'ayimirira wakati mu bo, n'agamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.” Awo n'agamba Tomasi nti: “Leeta wano olunwe lwo, era laba ebibatu byange. Era leeta ekibatu kyo, okiteeke mu mbiriizi zange. Leka kuba atakkiriza, naye akkiriza.” Tomasi n'amuddamu nti: “Mukama wange, era Katonda wange!” Yesu n'amugamba nti: “Olw'okuba ng'ondabye, kyovudde okkiriza? Ba mukisa abakkiriza nga tebalabye.” Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng'abayigirizwa be balaba, ebitawandiikiddwa mu kitabo kino. Naye bino biwandiikiddwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda, era olw'okukkiriza okwo, mulyoke mufune obulamu mu ye. Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey'e Tiberiya. Yabalabikira bw'ati: Simooni Peetero, ne Tomasi, ayitibwa Omulongo, ne Natanayili ow'e Kaana eky'e Galilaaya, ne batabani ba Zebedaayo, n'abayigirizwa ba Yesu abalala babiri, bonna baali wamu. Simooni Peetero n'abagamba nti: “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti: “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasa kantu. Obudde bwali bwakakya, Yesu n'ayimirira ku lubalama, kyokka abayigirizwa, ne batamanya nti ye Yesu. Awo Yesu n'abagamba nti: “Abalenzi, mukutteyo akookulya?” Ne bamuddamu nti: “Nedda.” N'abagamba nti: “Musuule akatimba ku ludda olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, era ne batayinza kukannyulula, olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa. Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga, n'agamba Peetero nti: “Oyo ye Mukama waffe.” Simooni Peetero bwe yawulira nti oyo ye Mukama, ne yeesiba olugoye, (kubanga yali bwereere), ne yeesuula mu mazzi. Abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato, nga basika akatimba akalimu ebyennyanja. Tebaali wala n'olukalu, naye nga balwesudde mita nga kikumi. Awo bwe baavaamu, ne batuuka ku lukalu, ne balaba omuliro ogw'amanda, nga guteekeddwako ebyennyanja, n'omugaati. Awo Yesu n'abagamba nti: “Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.” Simooni Peetero n'agenda, n'asaabala, n'awalula akatimba, n'akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo, akatimba tekaakutuka. Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulye.” Naye ku bayigirizwa, tewali yategana kumubuuza nti: “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama. Yesu n'ajja, n'atoola omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo. Guno gwe mulundi ogwokusatu, Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng'amaze okuzuukira. Bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala okusinga bano bwe banjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga abaana b'endiga zange.” Era n'amugamba omulundi ogwokubiri nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Lundanga endiga zange.” N'amugamba omulundi ogwokusatu nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” Peetero n'anakuwala, kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti: “Onjagala?” N'amuddamu nti: “Mukama wange, omanyi byonna, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga endiga zange. Mazima ddala nkugamba nti bwe wali omuvubuka, weesibanga, n'ogenda gy'oyagala. Naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala n'akusiba, n'akutwala gy'otoyagala.” Ekyo Yesu yakyogera, ng'alaga enfa, Peetero gy'alifaamu, okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera ekyo, n'agamba Peetero nti: “Ngoberera.” Peetero bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba omuyigirizwa oyo omulala, ng'agoberera. Omuyigirizwa oyo, ye oli Yesu gwe yayagalanga, era eyagalamira okumpi n'ekifuba kya Yesu nga balya, n'amubuuza nti: “Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?” Awo Peetero bwe yalaba oyo, n'agamba Yesu nti: “Mukama wange, ate ono aliba atya?” Yesu n'amuddamu nti: “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? Ggwe goberera nze.” Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Sso Yesu teyamugamba nti talifa, wabula nti: “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?” Oyo ye muyigirizwa akakasa bino, era ye yabiwandiika. Tumanyi nga by'ayogera bya mazima. Waliwo n'ebirala bingi Yesu bye yakola. Nabyo singa biwandiikibwa kinnakimu, ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa. Munnange Tewofilo, mu kitabo kyange ekisooka nawandiika ku ebyo Yesu bye yakola ne bye yayigiriza, okuva lwe yatandika okukola omulimu gwe, okutuusiza ddala ku lunaku lwe yatwalirwako mu ggulu. Bwe yali nga tannatwalibwa mu ggulu, yamala kukuutira ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, abatume be, be yalondamu. Mu nnaku amakumi ana ng'amaze okubonyaabonyezebwa era n'okuttibwa, yabalabikira emirundi mingi, mu ngeri ezaabakakasiza ddala nti mulamu. Baamulaba, era n'ayogera nabo ku Bwakabaka bwa Katonda. Era bwe baakuŋŋaana awamu, n'abalagira nti: “Temuva mu Yerusaalemu, wabula mulinde ekirabo Kitange kye yasuubiza, era kye nabagambako.” Yowanne yabatiza na mazzi, kyokka mmwe mu nnaku ntono, mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu. Abatume bwe baakuŋŋaana, ne babuuza Yesu nti: “Mukama waffe, mu kiseera kino mw'onoddizaawo obwakabaka bwa Yisirayeli?” Yesu n'abagamba nti: “Okumanya ebbanga n'ekiseera si kwammwe. Kitange yakuleka mu buyinza bwe. Kyokka Mwoyo Mutuukirivu bw'alijja ku mmwe, muliweebwa amaanyi. Era mulimmanyisa mu Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu Samariya, n'okutuusiza ddala ensi yonna gy'ekoma.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'atwalibwa mu ggulu nga balaba, ekire ne kimubikka, ne bataddayo kumulaba. Awo bwe baali nga batunuulira waggulu balabe bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru, ne bajja ne bayimirira kumpi nabo. Abasajja abo ne babuuza abatume nti: “Abasajja ab'e Galilaaya, lwaki muyimiridde nga mutunuulira waggulu? Oyo Yesu abaggyiddwako n'atwalibwa mu ggulu, alikomawo bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.” Awo abatume ne baddayo e Yerusaalemu nga bava ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, oluli okumpi ne Yerusaalemu, ebbanga nga lya kilomita emu. Bwe baayingira mu kibuga, ne bambuka mu kisenge ekya waggulu kye baabeerangamu. Baali: Peetero ne Yowanne, ne Yakobo ne Andereya, Filipo ne Tomasi, Barutolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, Simooni Omulwanirizi w'eddembe ly'eggwanga lye, ne Yuda muganda wa Yakobo. Abo bonna, era n'abakazi omwali Mariya nnyina Yesu ne baganda ba Yesu, ne beemaliranga ku kusinza Katonda. Mu nnaku ezo abooluganda ne bakuŋŋaana, nga bawera nga kikumi mu abiri. Peetero n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti: “Abooluganda, ekyawandiikibwa, Mwoyo Mutuukirivu kye yayogeza Dawudi ku Yuda eyakulembera abo abaakwata Yesu, kyali kiteekwa okutuukirizibwa. Yuda oyo yali omu ku ffe, kubanga yalondebwa okukola omulimu awamu naffe.” (Omusajja oyo Yuda, ensimbi ze yaweebwa olw'ekikolwa kye ekibi, yazigulamu ennimiro mwe yagwa n'afa. Yayabikamu wabiri, ebyenda bye ne biyiika. Abantu bonna ab'e Yerusaalemu kino bakimanyi, era mu lulimi lwabwe, kyebava bagiyita Akeludama, ekitegeeza nti: “Ennimiro y'Omusaayi”). “Mu kitabo kya Zabbuli kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba ye ebeere kifulukwa, ekibanja kye kibeere matongo.’ Era nti: ‘Obukulu bwe buweebwe omulala.’ Ne bassaawo abantu babiri: Yosefu ayitibwa Barusabba, era eyatuumibwa erya Yusto, n'omulala Matiya. Ne basaba Katonda nga bagamba nti: “Ggwe Mukama omanyi ebiri mu mitima gy'abantu bonna. Tulage gw'olonze ku bano ababiri, aweebwe ekifo mu mulimu gw'obutume, Yuda kye yaleka.” Ne bakuba akalulu, ne kalonda Matiya, n'abalirwa ku batume ekkumi n'omu. Awo olunaku olwa Pentekoote ne lutuuka. Ku olwo, abakkiriza bonna baali bakuŋŋaanidde mu kifo kimu. Amangwago ne wabaawo okuwuuma okwava mu ggulu, nga kuli ng'okuwuuma kw'empewo ey'amaanyi ennyo, ne kujjula ennyumba yonna mwe baali batudde. Awo ne balaba ennimi eziri ng'ez'omuliro, nga zeeyawuddemu, buli lulimi ne lubeera ku buli omu ku bo. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera mu nnimi eza buli ngeri, nga Mwoyo Mutuukirivu bwe yaziboogeza. Mu Yerusaalemu mwalimu Abayudaaya, abasajja abajjumbira eddiini, abaali bavudde mu buli kitundu kya nsi. Bwe baawulira okuwuuma okwo, ne bakuŋŋaana bangi, ne basamaalirira, kubanga buli omu yawulira abakkiriza Kristo nga boogera mu lulimi lwe. Ne bawuniikirira, ne beewuunya nga bagamba nti: “Abantu bano bonna aboogera si Bayudaaya? Kale lwaki ffe ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi z'ewaffe gye twazaalirwa? Tuva mu Paruti, Mediya ne Elamu; mu Mesopotaamiya, Buyudaaya, ne mu Kapadookiya; mu Ponto ne mu Asiya; mu Furigiya ne mu Panfiliya; mu Misiri ne mu bitundu ebya Libiya okumpi ne Kireene. Abamu tuva Rooma, nga tuli Bayudaaya, awamu n'ab'amawanga amalala abasoma Ekiyudaaya. Era abalala bava mu Kureete ne mu Buwarabu. Kyokka ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi zaffe, eby'amaanyi Katonda by'akoze!” Bonna nga basamaaliridde era nga basobeddwa, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kiki kino?” Naye abamu ne beesekera, ne bagamba nti: “Batamidde mwenge musu!” Awo Peetero ng'ali n'abatume abalala ekkumi n'omu, n'ayimirira, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Bayudaaya bannange, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemu, muwulirize, mutegeere bye ŋŋenda okwogera. Abantu bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza, kubanga kati essaawa zikyali ssatu ez'oku makya. Wabula kino ky'ekyo omulanzi Yoweeli kye yayogera nti: ‘Katonda agamba nti: Mu nnaku ez'oluvannyuma, ndigabira abantu bonna Mwoyo wange. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga ebirijja. Abavubuka bammwe balirabikirwa, n'abakadde mu mmwe baliroota ebirooto. Kya mazima, mu nnaku ezo, abaddu bange n'abazaana bange ndibagabira Mwoyo wange, ne balanga ebirijja. Ndikola ebyamagero ku ggulu, n'ebyewuunyisa ku nsi. Walibaawo omusaayi n'omuliro, n'omukka ogukutte. Enjuba eribikkibwa ekizikiza, n'omwezi gulimyuka ng'omusaayi. Ebyo bye birikulembera olunaku lwa Mukama olukulu era olwekitiibwa. Era buli alikoowoola Mukama, alirokolebwa.’ “Abayisirayeli, muwulire ebigambo bino. Yesu Omunazaareeti ye musajja Katonda gwe yakakasa nti ye yamutuma. Kino kyalabikira mu by'amaanyi n'ebyamagero n'ebyewuunyo, Katonda bye yamukozesa mu mmwe, nga nammwe bwe mumanyi. Yesu oyo yaweebwayo, nga Katonda bwe yali amaze okuteesa n'okumanya, ne mumukwasa abantu ababi okumukomerera ku musaalaba, ne mumutta. Kyokka Katonda yamuzuukiza, n'amuggya mu bulumi bw'okufa, kubanga okufa kwali nga tekuyinza kumunywereza ddala. Dawudi yamwogerako nti: ‘Nalaba Mukama ng'ali nange bulijjo; ng'ali kumpi nange nneme okusagaasagana. Omutima gwange kyeguva gusanyuka, n'ebigambo byange ne bijjula essanyu. Era nze wadde ndi wa kufa, nja kusigala nga nnina essuubi: kubanga tolireka mwoyo gwange magombe, era toliganya mutukuvu wo kuvunda. Wandaga amakubo agatuuka mu bulamu. Olinzijuza essanyu kubanga oli nange.’ “Abooluganda, nnyinza okubategeeza ebifa ku jjajjaffe omukulu Dawudi nga sirina kutya. Dawudi oyo yafa n'aziikibwa, n'amasiro ge gali wano ewaffe n'okutuusa kati. Dawudi yali mulanzi, era yamanya Katonda kye yamusuubiza ng'alayira n'okulayira nti omu ku bazzukulu be, alisikira entebe ey'obwakabaka bwe. Era yamanya ebiribaawo, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo, ng'agamba nti: ‘Teyalekebwa magombe, era n'omubiri gwe tegwavunda.’ “Yesu oyo, Katonda yamuzuukiza, era ffe tukakasa okuzuukira kwe. Bwe yamala okulinnyisibwa n'aliraana Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, era n'afuna Mwoyo Mutuukirivu eyamusuubizibwa Katonda Kitaawe, n'alyoka agaba ekirabo kye kino, kye mulabye era kye muwulira. Dawudi teyalinnya mu ggulu, sso ye yennyini yagamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’ “Kale nno, abantu ba Yisirayeli bonna bamanye awatali kubuusabuusa, nti Yesu oyo gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo.” Awo bwe baawulira ebyo, ne beeraliikirira nnyo, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti: “Abooluganda, tukole ki?” Peetero n'abagamba nti: “Mwenenye, era buli omu mu mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo, mulyoke musonyiyibwe ebibi byammwe, era munaafuna ekirabo, ye Mwoyo Mutuukirivu, kubanga kino Katonda yakibasuubiza mmwe, n'abaana bammwe, era n'abo bonna abali ewala, bonna Mukama Katonda waffe b'aliyita.” Era Peetero n'ayongera okubategeeza mu bigambo ebirala bingi, n'abagamba nti: “Mulokolebwe, mwewonye ekibonerezo ekigenda okuweebwa ab'omulembe guno omubi.” Awo abakkiriza ebigambo bye, ne babatizibwa. Ku lunaku olwo, omuwendo gw'abakkiriza ne gweyongerako abantu ng'enkumi ssatu. Ne banyiikiriranga okuyigirizibwa abatume, n'okwetaba mu nkuŋŋaana ez'okutabagana, n'okuliira awamu ng'abooluganda, era n'okusinza Katonda. Ebyamagero bingi n'ebyewuunyo ne bikolebwanga abatume, abantu bonna ne beewuunya. Bonna abakkiriza baabanga wamu, era nga bassa kimu mu byonna. Baatundanga ebyabwe, ensimbi ze baggyangamu ne bazigabiranga bonna, nga buli muntu bwe yeetaaganga. Baanyiikiranga okukuŋŋaanira mu Ssinzizo buli lunaku. Era mu maka gaabwe baaliirangamu emmere yaabwe nga bajjudde essanyu n'okukkaanya, nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Buli lunaku Mukama yabongerangako abo abaalokolebwanga. Awo Peetero ne Yowanne ne bambuka mu Ssinzizo ku ssaawa ey'omwenda ey'olweggulo, mu ssaawa ey'okusinzizaamu Katonda. Ku luggi olw'Essinzizo oluyitibwa Olulungi, waaliwo omusajja eyali omulema okuviira ddala lwe yazaalibwa. Buli lunaku baamuteekanga awo ku luggi asabirize ensimbi ku bantu abaayingiranga mu Ssinzizo. Bwe yalaba Peetero ne Yowanne nga bagenda okuyingira mu Ssinzizo, n'abasaba ensimbi. Ne bamusimba amaaso. Peetero n'amugamba nti: “Tutunuulire.” Awo n'abatunuulira, ng'asuubira nti banaabaako kye bamuwa. Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi sirina n'akatono, naye kye nnina kye nnaakuwa. Mu linnya lya Yesu Omunazaareeti nkulagira, tambula.” Awo n'amukwata ku mukono gwe ogwa ddyo, n'amuyimusa. Amangwago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi. N'agolokoka mangu, n'ayimirira, n'atambula, n'ayingira nabo mu Ssinzizo, ng'atambula, ng'abuuka, era ng'atendereza Katonda. Abantu bonna ne bamulaba ng'atambula era ng'atendereza Katonda. Ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku Luggi Olulungi olw'Essinzizo ng'asabiriza. Bonna ne bawuniikirira nnyo, era ne beewuunya olw'ekyo ekikoleddwa. Bwe yali akyekutte ku Peetero ne Yowanne, abantu bonna ne basamaalirira, ne badduka ne bagenda awali Peetero ne Yowanne ku kifugi ekiyitibwa ekya Solomooni. Peetero bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Abasajja Abayisirayeli, lwaki kino kibeewuunyisa? Lwaki mututunuulira bwe mutyo? Mulowooza nti buyinza bwaffe, oba bulungi bwaffe mu maaso ga Katonda bye bisobozesezza ono okutambula? Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, ye agulumizizza omuweereza we Yesu, mmwe gwe mwawaayo era ne mumwegaanira mu maaso ga Pilaato, eyali asazeewo okumuta. Naye mmwe mwegaana omutuukirivu era atuukiriza byonna Katonda by'alagira, ne musaba okubateera omutemu. Mwatta oyo awa bonna obulamu, kyokka Katonda n'amuzuukiza. Era ffe kino tukikakasa. Obuyinza bwa Yesu oyo bwe buwadde amaanyi omuntu ono gwe mulaba era gwe mumanyi, era okwesiga Yesu kwe kuleetedde omuntu ono okuwonera ddala nga mwenna bwe mulaba. “Kale nno abooluganda, mmanyi nga mmwe, awamu n'abafuzi bammwe, bye mwakola Yesu, mwabikola mu butamanya. Mu byo Katonda n'atuukiriza ebyo bye yayogeza abalanzi be bonna ab'edda, abaalanga ku Kristo we nti alibonyaabonyezebwa. Kale nno mwenenye, mudde eri Katonda, ebibi byammwe bisonyiyibwe, Katonda alyoke awenga emitima gyammwe okuwummula, era abatumire Kristo gwe yabategekera edda, ye Yesu. Kristo oyo ateekwa okubeera mu ggulu okutuusa ebintu byonna lwe birizzibwa obuggya, nga Katonda bwe yayogerera mu balanzi be abatukuvu abaaliwo edda. Musa yagamba nti: ‘Mukama Katonda alibatumira omulanzi aliva mu baganda bammwe, nga bwe yabatumira nze. Mumuwuliranga mu byonna by'alibagamba. Kyokka buli muntu ataliwulira mulanzi oyo, aliggyibwa mu bantu ba Katonda, n'azikirizibwa.’ Era abalanzi bonna abaayogera, okuva ku Samweli n'abaamuddirira, ennaku zino baaziranga. Ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu balanzi, byammwe. Era n'endagaano gye yalagaana ne bajjajjammwe, yakolerwa mmwe. Yagamba Aburahamu nti: ‘Mu bazzukulu bo, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.’ Kale Katonda bwe yalonda omuweereza we, yasooka kumutumira mmwe, abawe omukisa ng'abakyusa mwenna okuva mu bibi byammwe.” Peetero ne Yowanne bwe baali bakyayogera n'ekibiina ky'abantu, bakabona n'omukulu w'abakuumi b'Essinzizo, wamu n'Abasaddukaayo, ne bajja gye bali. Baali banyiivu, kubanga abo bombi baali bayigiriza abantu nti Yesu yazuukira, kino nga kikakasa nti abafu bagenda kuzuukira. Ne bakwata Peetero ne Yowanne ne babateeka mu kkomera okutuusa ku lunaku olwaddirira, kubanga obudde bwali buwungedde. Kyokka bangi ku abo abaawulira ebigambo Peetero bye yababuulira, ne bakkiriza. Omuwendo gwabwe gwali abasajja ng'enkumi ttaano. Ku lunaku olwaddirira, abakulembeze b'Abayudaaya n'abantu abakulu mu ggwanga, awamu n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemu. Baali ne Anna ne Kayaafa Ssaabakabona, ne Yowanne ne Alekizanda, wamu n'abalala ab'olulyo lwa Ssaabakabona. Ne balagira abatume okuyimirira mu maaso g'olukiiko, ne bababuuza nti: “Mwakozesa buyinza bw'ani, oba ani eyabasobozesa okuwonya omuntu ono?” Awo Peetero ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'abagamba nti: “Mmwe abafuzi, era nammwe abantu abakulu mu ggwanga, oba nga tubuuzibwa olw'ekikolwa ekirungi ekikoleddwa ku muntu abadde omulema, era ne ku ngeri gy'awonyezeddwamu, kale abantu ba Yisirayeli bonna, era nammwe mwenna musaana mumanye nti obuyinza bwa Yesu Kristo Omunazaareeti, mmwe gwe mwakomerera ku musaalaba, ate Katonda n'amuzuukiza, bwe buyimirizza omuntu ono wakati mu mmwe nga mulamu. Yesu ye oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Ejjinja mmwe abazimbi lye mwagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’ Ye yekka ye ayinza okulokola abantu, kubanga mu nsi yonna tewali mulala Katonda gwe yawa linnya liyinza kutulokola.” Bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yowanne, era bwe baategeera nti be bantu abaabulijjo era abatali bayigirize, ne beewuunya. Era ne bakizuula nga baali wamu ne Yesu. Ate bwe baalaba omuntu awonyezeddwa ng'ayimiridde wamu ne Peetero ne Yowanne, ne babulwa kye bagamba. Bwe baamala okubafulumya mu lukiiko, ne bateesa nga bagamba nti: “Tunaakola tutya abantu bano? Ekyewuunyo kye bakoze kimaze okumanyibwa abantu bonna ababeera mu Yerusaalemu, era tetuyinza kukigaana! Naye okukiziyiza okubuna, ka tuyite abasajja bano, tubakangise, baleme kweyongera kwogera na muntu n'omu mu linnya eryo.” Awo ne babayita ne babalagira obutaddayo kwogera, wadde okuyigiriza omuntu n'omu mu linnya lya Yesu. Peetero ne Yowanne ne babaddamu nti: “Mmwe muba musalawo ekisinga obulungi mu maaso ga Katonda, kuwulira Ye oba mmwe? Ffe tetuyinza butayogera ekyo kye twalaba era kye twawulira.” Awo ne beeyongera okubatiisatiisa ne babata, nga tebalaba bwe banaababonereza olw'okutya abantu, kubanga bonna baali nga batendereza Katonda olw'ekyo ekyakolebwa. Omusajja eyakolerwa ekyewuunyo ekyo eky'okuwonyezebwa, yali asussizza mu myaka amakumi ana. Peetero ne Yowanne bwe baateebwa, ne baddayo eri bannaabwe, ne bababuulira byonna bakabona abakulu, awamu n'abantu abakulu mu ggwanga bye babagambye. Bwe baabiwulira, ne beegatta wamu bonna, ne beegayirira Katonda nga bagamba nti: “Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu, ku bwa Mwoyo Mutuukirivu wayogerera mu jjajjaffe Dawudi omuddu wo, n'ogamba nti: ‘Lwaki ab'amawanga amalala banyiize? Era lwaki abantu balowooza ebitaliimu? Bakabaka b'ensi beeteekateeka, n'abafuzi baakuŋŋaana wamu, okulwanyisa Mukama Katonda ne Kristo we.’ “Ddala Herode ne Pontiyo Pilaato awamu n'abantu ba Yisirayeli n'ab'amawanga amalala baakuŋŋaanira mu kibuga muno, okulwanyisa Yesu Omuweereza wo omutuukirivu, gwe wafuula Kristo. Ne batuukiriza ekyo, ggwe kye wateekateeka mu buyinza bwo, nga bwe wayagala. “Kale kaakano Mukama, laba okutiisatiisa kwabwe. Wa abaweereza bo, boogere ekigambo kyo n'obuvumu. Golola omukono gwo owonye, era n'ebyamagero bikolebwe mu linnya ly'Omuweereza wo omutuukirivu Yesu.” Bwe baamala okwegayirira Katonda, ekifo kyonna mwe baali bakuŋŋaanidde, ne kikankana. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu. Ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, kyalina omutima gumu n'emmeeme emu. Tewaali n'omu yagambanga nti ekintu ky'alina kikye yekka, wabula byonna bye baalina byabanga byabwe wamu. Abatume ne bakakasa n'amaanyi mangi okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna Katonda n'abayambanga nnyo. Bonna baafunanga bye beetaaganga, kubanga abaabanga n'ennimiro oba ennyumba baazitundanga, ensimbi ezaavangamu ne bazireetera abatume, ne bagabira buli muntu nga bwe yeetaaganga. Ne Yosefu Omuleevi eyazaalibwa e Kipuro, abatume gwe baakazaako erya Barunaba (amakulu gaalyo nti “Azzaamu abantu amaanyi”), n'atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n'azitwala n'azikwasa abatume. Naye waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya, nga mukazi we ye Safira, n'atunda ennimiro ye. Ekitundu ky'ensimbi ezaavaamu n'akitereka, nga ne mukazi we amanyi. Ezaasigalawo n'azitwalira abatume. Peetero n'amubuuza nti: “Ananiya, lwaki wakkirizza Sitaani okufuga omutima gwo, n'olimba Mwoyo Mutuukirivu nga weeterekera ezimu ku nsimbi ze wafuna mu nnimiro? Bwe wali tonnagitunda teyali yiyo? Era n'ensimbi ze wafunamu tezaali mu buyinza bwo? Kale lwaki wateesezza mu mutima gwo okukola ekintu ekifaanana bwe kityo? Tolimbye bantu, wabula olimbye Katonda.” Ananiya olwawulira ebyo, n'agwa n'afiirawo. Bonna abaakiwulira ne bajjula entiisa. Abavubuka ne bajja ne bazinga omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika. Bwe waayitawo ebbanga lya ssaawa nga ssatu, mukazi we naye n'ayingira. Yali nga tamanyi bibaddewo. Peetero n'amubuuza nti: “Mbuulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe guti?” N'addamu nti: “Ddala gwe guugwo.” Awo Peetero n'amubuuza nti: “Lwaki mwakkiriziganyizza okukema Mwoyo wa Mukama? Laba, abaziise balo baabo bayingira, naawe banaakutwala.” Amangwago n'agwa kumpi n'ebigere bya Peetero, n'afiirawo. Abavubuka bwe baayingira, ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. Awo ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo era n'abalala bonna abaawulira ebyo, ne bajjula entiisa nnene. Awo abatume ne bakolanga ebyewuunyo n'ebyamagero bingi mu bantu. Abakkiriza bonna nga bali bumu, baakuŋŋaaniranga ku kifugi kya Solomooni. Newaakubadde abantu abalala baabassangamu nnyo ekitiibwa, naye nga tewali aguma kubeetabikamu. Kyokka omuwendo gw'abasajja n'abakazi abakkiriza Mukama, ne gugenda nga gweyongera. N'okuleeta ne baleetanga abalwadde baabwe, ne babagalamiza ku bitanda ne ku mikeeka ku kkubo, Peetero ng'ayitawo waakiri ekisiikirize kye kituuke ku bamu. Era abantu bangi ab'omu bibuga ebiriraanye Yerusaalemu, ne beesomba nga baleeta abalwadde n'abateganyizibwa emyoyo emibi, bonna ne bawonyezebwa. Awo Ssaabakabona ne bonna abaali naye ab'ekibiina ky'Abasaddukaayo, ne bajjula obuggya. Ne bakwata abatume, ne babateeka mu kkomera lya bonna. Naye ekiro, malayika wa Mukama n'aggulawo enzigi z'ekkomera, n'abafulumya ebweru, n'abagamba nti: “Mugende muyingire mu Ssinzizo, mutegeeze abantu ebigambo byonna eby'obulamu buno obuggya.” Bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bakeera mu matulutulu, ne bayingira mu Ssinzizo, ne bayigiriza. Awo Ssaabakabona n'abaali naye, ne bajja ne bayita olukiiko, wamu n'abantu bonna abakulu mu ggwanga lya Yisirayeli, ne batumya mu kkomera okuleeta abatume. Naye abaatumibwa mu kkomera ne batabasangamu. Ne baddayo ne babategeeza nti: “Ekkomera tusanze lisibiddwa bulungi, n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi, naye bwe tuliggudde, tetusanzeemu muntu n'omu.” Awo bakabona abakulu n'omukulu w'abakuumi b'Essinzizo, bwe baawulira ebyo, ne basoberwa. Ne wabaawo eyajja n'abategeeza nti: “Abasajja be mwaggalidde mu kkomera, baabali bali mu Ssinzizo bayigiriza.” Awo omukulu w'abakuumi n'agenda ne basajja be, ne baleeta mpolampola abatume, kubanga baatya abantu okubakuba amayinja. Bwe baabaleeta, ne babayimiriza mu maaso g'olukiiko. Ssaabakabona n'abagamba nti: “Twabalagira obutayigirizanga mu linnya lya Yesu. Naye kati mujjuzizza Yerusaalemu okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okututeekako omusango gw'okutta omuntu oyo.” Kyokka Peetero n'abatume abalala ne baddamu nti: “Tuteekwa okuwulira Katonda okusinga okuwulira abantu. Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe, bwe mwamukomerera ku musaalaba. Oyo Katonda yamugulumiza, n'amutuuza ng'amuliraanye ku mukono gwe ogwa ddyo, nga ye Mukulembeze era Omulokozi, alyoke awe abantu ba Yisirayeli okwenenya n'okusonyiyibwa ebibi. Era ffe tukakasa ebyo, ffe ne Mwoyo Mutuukirivu, Katonda gwe yawa abo abamugondera.” Bwe baawulira ebyo, ne banyiiga nnyo, ne baagala okubatta. Naye Omufarisaayo erinnya lye Gamaliyeeli, omunnyonnyozi w'amateeka, assibwamu ekitiibwa abantu bonna, n'ayimirira mu lukiiko, n'asaba abatume bafulumizibwe mu lukiiko okumala akaseera. N'agamba banne nti: “Abasajja Abayisirayeli, mwegendereze kye mukola abantu bano. Mu nnaku eziyise, waasitukawo Tewuda ng'agamba nti ye muntu omukulu, era abasajja nga bikumi bina ne bamugoberera. Kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana. Ebibye ne bikoma. Oyo bwe yavaawo, ne wasitukawo Yuda Omugalilaaya, mu biseera eby'okubala abantu. N'afuna abagoberezi bangi. Oyo naye yazikirira era abagoberezi be ne basaasaana. Kale nno kaakano mbagamba nti muve ku bantu bano, mubaleke, kubanga ebyo bye bateekateeka ne bye bakola bwe biba nga bya bantu buntu, bijja kuggwaawo. Naye bwe biba nga bya Katonda, temusobola kubizikiriza. Era muyinza okwejjuukiriza nga mulwanagana na Katonda!” Olukiiko ne lugoberera amagezi ga Gamaliyeeli. Ne bayita abatume, ne babakuba. Ne babalagira obutaddamu kwogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata. Awo abatume ne bava mu lukiiko nga basanyuka olw'okusaanira okubonyaabonyezebwa olw'erinnya lya Yesu. Era buli lunaku, mu Ssinzizo ne mu maka, tebaayosanga kuyigiriza na kutegeeza bantu nti Yesu ye Kristo. Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, Abayudaaya aboogera Oluyonaani ne beemulugunyiza bannaabwe aboogera Olwebureeyi, kubanga bannamwandu baabwe tebaaweebwanga bulungi bintu ebyagabibwanga buli lunaku. Awo abatume ekkumi n'ababiri ne bayita abayigirizwa bonna, ne babagamba nti: “Tekisaana ffe okuleka okuyigiriza ekigambo kya Katonda, ne tudda mu kugabanya ebintu. Kale abooluganda, mulonde mu mmwe abasajja musanvu be musiima, abajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'amagezi, be tuba tukwasa omulimu ogwo. Naye ffe tujja kwemalira ku kusinza Katonda na kuyigiriza kigambo kye.” Kye baayogera ne kisanyusa ekibiina kyonna. Ne balonda Siteefano omusajja ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, ne Filipo, ne Purokoro, ne Nikanori, ne Timoone, ne Parumena, ne Nikolaawo ow'e Antiyookiya, eyali asomye Ekiyudaaya. Ne babaleeta, ne babateeka mu maaso g'abatume, ne beegayirira Katonda, era ne babateekako emikono gyabwe. Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna. Mu Yerusaalemu omuwendo gw'abayigirizwa ne gugenda nga gweyongera, ne bakabona bangi ne bafuuka abagoberezi ba Yesu. Awo Siteefano ng'ajjudde amaanyi n'ekisa Katonda kye yamukwatirwa, n'akola ebyamagero n'ebyewuunyo bingi mu bantu. Kyokka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abanunule, abaava mu Kireene, ne mu Alekisanderiya, n'abalala abaava mu Kilikiya ne mu Asiya, ne bawakana naye. Kyokka ne batamusobola, olw'amagezi ge yayogeza, nga gamuweebwa Mwoyo Mutuukirivu. Awo ne bafukuutirira abantu bagambe nti: “Twamuwulira ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda.” Mu ngeri eyo ne batabangula abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka era n'abantu abalala. Ne bajja eri Siteefano, ne bamukwata, ne bamuleeta mu lukiiko. Ne baleeta abajulizi ab'obulimba abaagamba nti: “Omuntu ono bulijjo ayogera ebigambo ebivuma ekifo kino ekitukuvu era n'amateeka ga Musa, kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaareeti ajja kuzikiriza ekifo kino, akyuse n'empisa Musa ze yatuwa.” Bonna abaali mu lukiiko ne bamutunuulira, ne balaba amaaso ge nga gali ng'aga malayika. Awo Ssaabakabona n'abuuza Siteefano nti: “Ebyo bwe biri bwe bityo?” Siteefano n'agamba nti: “Abasajja abooluganda ne bassebo, muwulire: Katonda oweekitiibwa yalabikira jjajjaffe Aburahamu ng'ali e Mesopotaamiya, nga tannabeera mu Karani, n'amugamba nti: ‘Va mu nsi yammwe ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’ Awo n'aleka ensi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Karani. Kitaawe bwe yamala okufa, Katonda n'aggyayo Aburahamu, n'amuleeta mu nsi eno mwe muli kati. N'atagimuwaamu ttaka, wadde akatundu akaweza ekigere ekimu. Kyokka n'amusuubiza okugimuwa ebe yiye ne bazzukulu be abaliddawo, sso nga yali talina mwana. “Katonda yagamba Aburahamu nti: ‘Ab'ezzadde lyo balibeera mu nsi ey'eggwanga eddala, eriribafuga obuddu. Balibayisa bubi okumala ebbanga lya myaka ebikumi bina. Naye nze ndisala omusango ne gusinga eggwanga eriribafuula abaddu, era oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’ Awo n'akola endagaano eyakakasibwa n'okukomola. Bw'atyo Aburahamu bwe yazaala Yisaaka, n'amukomola ku lunaku olw'omunaana. Yisaaka n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala bajjajjaffe abakulu ekkumi n'ababiri, era bonna baakomolebwa. “Bajjajjaffe abakulu baakwatirwa Yosefu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Kyokka Katonda yali naye, n'amuwonya mu kubonaabona kwe kwonna, n'amuwa amagezi n'okuganja eri Faraawo kabaka w'e Misiri, eyamufuula omufuzi mu Misiri ne mu lubiri lwe lwonna. Awo enjala nnyingi n'egwa mu Misiri yonna ne mu Kanaani, okubonaabona ne kuba kungi. Bajjajjaffe ne balumwa enjala. Kyokka Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo emmere, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogwasooka. Ku mulundi ogwokubiri, Yosefu n'amanyibwa baganda be, n'olulyo lwe ne lumanyibwa Faraawo. Awo Yosefu n'atuma, n'ayita baganda be bonna ne kitaawe, Yakobo. Bonna awamu baali abantu nsanvu. Yakobo n'aserengeta e Misiri. Ye ne bajjajjaffe gye baafiira. Emirambo gyabwe ne gitwalibwa e Sekemu ne gigalamizibwa mu ntaana Aburahamu gye yagula ku bazzukulu ba Hamori mu Sekemu. “Naye ekiseera Katonda kye yasuubiza Aburahamu bwe kyali kisembedde, bajjajjaffe ne baala, ne babeera bangi mu Misiri, okutuusa lwe waabaawo kabaka omulala ataamanya Yosefu. Oyo n'asalira eggwanga lyaffe enkwe, n'abonyaabonya nnyo bajjajjaffe, n'abasuuzanga abaana baabwe abawere, bafe. Mu kiseera ekyo Musa n'azaalibwa, nga mwana mulungi nnyo. Ne bamuyonseza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe. Bwe yasuulibwa, muwala wa Faraawo n'amutwala, n'amukuza ng'omwana we. Musa n'ayigirizibwa amagezi gonna ag'Abamisiri, n'aba wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye. “Musa bwe yaweza emyaka amakumi ana, n'ajjirwa ekirowoozo eky'okukyalira baganda be Abayisirayeli. Bwe yalaba omu ku bo ng'ayisibwa bubi, n'amulwanirira n'amutaasa, n'atta Omumisiri. Ye yalowooza nti baganda be bategedde nga Katonda agenda kuyita mu ye okubanunula, kyokka bo tebaakitegeera. Olunaku olwaddirira, n'asanga Abayisirayeli babiri nga balwana, n'agezaako okubatabaganya ng'agamba nti: ‘Basajja mmwe, muli baaluganda, lwaki mulwanagana?’ Naye oli eyali akuba munne, n'asindika eri Musa, ng'agamba nti: ‘Ani yakufuula omufuzi era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’ “Musa bwe yawulira ebyo n'adduka, n'awaŋŋangukira mu nsi y'e Midiyaani, n'azaalirayo abaana ab'obulenzi babiri. Bwe waayitawo emyaka amakumi ana, malayika wa Mukama n'alabikira Musa mu nnimi ez'omuliro ogwali gwakira mu kisaka mu ddungu, okumpi n'olusozi Sinaayi. Musa bwe yakiraba, ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yali ng'asembera okwetegereza, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti: ‘Nze Katonda wa bajjajjaabo, Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo.’ Musa n'akankana, n'atya okutunuulira nate. Mukama n'amugamba nti: ‘Ggyamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu. Ntunudde ne ndaba abantu bange abali mu Misiri bwe babonyaabonyezebwa, mpulidde okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale jjangu nkutume e Misiri.’ “Musa oyo gwe baagaana nga bagamba nti: ‘Ani yakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Katonda gwe yatuma ng'ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka, abe omufuzi era omununuzi. Ye yabakulembera ng'akola ebyamagero n'ebyewuunyo mu nsi y'e Misiri, ne mu nnyanja emmyufu ne mu ddungu, emyaka amakumi ana. Era Musa oyo ye yagamba Abayisirayeli nti: ‘Katonda alibatumira omulanzi aliva mu baganda bammwe, nga bwe yabatumira nze.’ Musa ye wuuyo eyaliwo Abayisirayeli bonna bwe baakuŋŋaanira mu ddungu. Yali ne malayika eyayogera naye ku Lusozi Sinaayi, era eyali ne bajjajjaffe. Ye wuuyo eyaweebwa ebigambo by'obulamu okubituwa. “Bajjajjaffe baagaana okumuwulira ne bamwesammulako, emitima gyabwe ne giddayo e Misiri. Ne bagamba Arooni nti: ‘Tukolere balubaale abanaatukulembera, kubanga Musa oyo eyatuggya mu nsi y'e Misiri tetumanyi ky'abadde.’ Awo ne bakola ekifaananyi ky'ennyana, ne bawaayo ebitambiro eri ekifaananyi ekyo, ne basanyukira ekintu ekyo kye beekoledde. Kyokka Katonda n'abavaako, n'abawaayo okusinzanga emmunyeenye ez'oku ggulu, nga bwe kisangibwa mu byawandiikibwa abalanzi nti: ‘Mmwe Abayisirayeli, ensolo ezattibwanga era n'ebitambiro mwabiwanga nze mu myaka amakumi ana gye mwamala mu ddungu? Nedda, mwasitula weema ya lubaale Moleki, n'emmunyeenye ya lubaale Refani. Ebyo bye bifaananyi bye mwakola, mulyoke mubisinze. N'olwekyo ndibawaŋŋangusiza emitala wa Babilooni.’ “Bajjajjaffe bwe baali mu ddungu, baalina eweema eraga nti Katonda ali nabo. Eweema eyo yakolebwa nga Katonda bwe yagamba Musa okugikola, n'agikola mu ngeri Katonda gye yagimulagamu. Bajjajjaffe nabo ne bagifuna, ne bajja nayo. Bwe baayingira mu nsi muno nga bali ne Yoswa, ne beefuga ensi y'ab'amawanga amalala, Katonda be yagobamu nga bajjajjaffe balaba. Eweema eyo yabeera mu nsi muno okutuusiza ddala mu biseera bya Dawudi eyasiimibwa Katonda, era eyasaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. Wabula Solomooni ye yagimuzimbira. Kyokka Katonda Atenkanika tasula mu nnyumba zizimbibwa bantu, ng'omulanzi bw'agamba nti Mukama Katonda agamba nti: ‘Eggulu y'entebe yange, n'ensi kwe nzisa ebigere byange. Mulinzimbira nnyumba ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira? Si nze nakola ebyo byonna?’ “Mmwe abajeemu, ab'emitima emikakanyavu, era abagaana okuwulira ebigambo bya Katonda! Muli nga bajjajjammwe, kubanga bulijjo mulwanyisa Mwoyo Mutuukirivu! Mulanzi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta ababaka ba Katonda abaalanga okujja kw'Omutuukirivu, mmwe gwe mwalyamu olukwe ne mumutta. Mmwe abaafuna amateeka nga bwe gaalangirirwa bamalayika, mwagaana okugakwata.” Bwe baawulira ebyo, ne bajjula obusungu, ne bamulumira obujiji. Naye Siteefano ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'atunuulira eggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde okuliraana Katonda ku mukono gwe ogwa ddyo. Siteefano n'agamba nti: “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde okuliraana Katonda ku mukono gwe ogwa ddyo.” Naye bo ne baleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka, nga baggadde amatu gaabwe, ne bamufubutukira bonna wamu. Ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abo abaamukuba amayinja, engoye zaabwe ne baziteresa omuvubuka erinnya lye Sawulo, azikuume. Bwe baali bamukuba, ye n'akoowoola ng'agamba nti: “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.” N'afukamira, n'akoowola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Ayi Mukama, basonyiwe ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ebyo n'afa. Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe. Ku lunaku olwo ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali e Yerusaalemu ne kitandika okuyigganyizibwa ennyo. Bonna okuggyako abatume, ne basaasaanira mu kitundu ky'e Buyudaaya ne Samariya. Abasajja abajjumbizi b'eddiini ne baziika Siteefano, era ne bamukungubagira nnyo. Kyokka Sawulo n'agezaako okuzikiriza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ng'ayingira mu buli nnyumba, n'akwata abasajja n'abakazi, n'abateeka mu kkomera. Awo abo abaasaasaana, ne bagenda nga bategeeza abantu ekigambo kya Katonda. Filipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samariya, n'ategeeza abantu baayo ku Kristo. Abantu bwe baawulira Filipo by'ayogera, ne balaba n'ebyewuunyo by'akola, bonna ne bassa nnyo omwoyo ku ebyo by'ayigiriza. Emyoyo emibi gyavanga ku bantu nga gikaaba n'eddoboozi ery'omwanguka. Era bangi abakoozimbye n'abalema, ne bawonyezebwa. Ne wabaawo essanyu lingi mu kibuga ekyo. Naye waaliwo omusajja erinnya lye Simooni, eyakolanga eby'obulogo mu kibuga ekyo, n'asamaaliriza Abasamariya. Yagambanga nti ye, muntu wa kitalo. Bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu baamuwuliranga, ne bagamba nti: “Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa ‘Amangi.’ ” Baamuwuliranga, kubanga okumala ebbanga ddene, yabeewuunyisanga n'eby'obulogo bye. Kyokka Filipo bwe yategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yesu Kristo, abasajja n'abakazi ne bakkiriza, ne babatizibwa. Ne Simooni yennyini n'akkiriza. Era bwe yamala okubatizibwa, n'abeera wamu ne Filipo. Bwe yalaba ebyamagero ebisuffu Filipo bye yakola, n'awuniikirira. Awo abatume abaali mu Yerusaalemu bwe baawulira nga mu Samariya abaayo bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yowanne. Bano bwe baatuukayo, ne basabira abakkiriza bafune Mwoyo Mutuukirivu, kubanga mu bo temwali wadde omu eyali amufunye. Baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama Yesu. Awo Peetero ne Yowanne bwe baabassaako emikono, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu. Naye Simooni bwe yalaba ng'abatume bassa emikono ku bantu, abantu abo ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu, n'aleetera abatume ensimbi, n'agamba nti: “Nange mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono, afune Mwoyo Mutuukirivu.” Kyokka Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi zo zizikirire wamu naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda ng'okiguza ensimbi! Ekyo tokirinaamu mugabo, era toli wa kukigabanako, kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. Kale weenenye ekibi kyo, weegayirire Katonda, akyayinza okukusonyiwa ekirowoozo ekyo ekiri mu mutima gwo, kubanga ndaba ng'ojjudde obuggya, era ng'oli mu nvuba ya kibi.” Simooni n'addamu Peetero nti: “Munsabire eri Mukama, ebigambo ebyo bye mwogedde waleme kubaawo na kimu ekintuukako.” Awo Peetero ne Yowanne bwe baamala okwogera ekigambo kya Katonda n'okukinyweza mu bantu, ne baddayo e Yerusaalemu, nga bagenda bategeeza abantu ab'omu byalo by'e Samariya Amawulire Amalungi. Awo malayika wa Mukama n'agamba Filipo nti: “Golokoka ogende mu bukiikaddyo, okwate ekkubo eriyita mu ddungu, era eriva e Yerusaalemu okulaga e Gaaza.” N'agolokoka n'agenda. Mu kiseera ekyo, waaliwo omusajja Omwetiyopiya, omulaawe, omukungu wa kabaka omukazi Kandake owa Etiyopiya, era omuwanika we omukulu. Yali azze e Yerusaalemu okusinza Katonda. Bwe yali ng'addayo, ng'atudde mu ggaali ye, era ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya, Mwoyo Mutuukirivu n'agamba Filipo nti: “Genda otuuke ku gaali eyo.” Awo Filipo bwe yadduka n'agituukako, n'amuwulira ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya, n'amubuuza nti: “By'osoma obitegeera?” Ye n'amuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera nga tewali abinnyinyonnyola?” Awo n'ayita Filipo alinnye, atuule wamu naye. Ekitundu ky'ebyawandiikibwa kye yali asoma kigamba nti: “Yali ng'endiga etwalibwa okuttibwa; yali ng'omwana gw'endiga ogutakaaba nga bagusalako ebyoya; teyayogera kigambo na kimu. Yafeebezebwa, n'omusango gwe ne gusalirizibwa. Tewali alinnyonnyola lulyo lwe, kubanga obulamu bwe buggyiddwa mu nsi.” Omulaawe n'agamba Filipo nti: “Mbuulira, Omulanzi ayogera ku ani? Yeeyogerako yennyini oba ayogera ku mulala?” Filipo n'atandikira ku kyawandiikibwa ekyo, n'amutegeeza Amawulire Amalungi aga Yesu. Bwe beeyongera mu maaso, ne batuuka awali amazzi, omulaawe n'agamba Filipo nti: “Laba amazzi gaagano! Ekiŋŋaana okubatizibwa kiki? [ Filipo n'agamba nti: ‘Oba ng'okkiriza n'omutima gwo gwonna, oyinza okubatizibwa.’ Ye n'addamu nti: ‘Nzikiriza nga Yesu Kristo ye Mwana wa Katonda.’ ”] Awo n'alagira eggaali okuyimirira. Bombi, Filipo n'omulaawe, ne bakka mu mazzi, Filipo n'amubatiza. Bwe baava mu mazzi, Mwoyo wa Mukama n'atwala Filipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba, kyokka n'akwata ekkubo lye ng'ajjudde essanyu. Awo Filipo n'atuuka mu Azooto, n'ayitaayita mu bibuga byonna okutuuka e Kayisaariya, ng'agenda ategeeza abantu Amawulire Amalungi. Sawulo bwe yali ng'akyewerera okutta abayigirizwa ba Mukama, n'agenda eri Ssaabakabona, n'amusaba ebbaluwa emuwa obuyinza okugenda mu makuŋŋaaniro ag'e Damasiko, akwate abasajja n'abakazi abatambulira mu Kkubo lya Mukama, abaleete e Yerusaalemu basibibwe. Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago okwakaayakana okwava mu ggulu ne kumwetooloola. N'agwa wansi, n'awulira eddoboozi nga limugamba nti: “Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?” N'agamba nti: “Ggwe ani Mukama wange?” N'addamu nti: “Nze Yesu gw'oyigganya. Naye golokoka, oyingire mu kibuga. Eyo gy'onootegeerezebwa ky'onookola.” Abasajja abaali batambula ne Sawulo ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga baawulira eddoboozi, naye nga tebalaba muntu. Sawulo n'agolokoka. Bwe yazibula amaaso ge, n'atasobola kulaba. Ne bamukwata ku mukono, ne bamuyingiza mu Damasiko. N'amalira ddala ennaku ssatu nga talaba, era nga talya wadde okunywa. Waaliwo omuyigirizwa mu Damasiko, erinnya lye Ananiya. Mukama n'amulabikira n'amugamba nti. “Ananiya!” N'addamu nti: “Nzuuno Mukama wange.” Mukama n'amugamba nti: “Golokoka okwate ekkubo eriyitibwa Eggolokofu, obuuze mu nnyumba ya Yuda, omuntu ow'e Taruso, erinnya lye Sawulo. Mu kiseera kino asinza Katonda, era alabikiddwa omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira era ng'amussaako emikono addemu okulaba.” Ananiya n'amuddamu nti: “Mukama wange, mpulidde bangi nga boogera ku musajja oyo, nga bw'abonyaabonyezza abantu bo abali mu Yerusaalemu. Era ne wano alina obuyinza obumuweereddwa bakabona abakulu, asibe abo bonna abakoowoola erinnya lyo.” Mukama n'amugamba nti: “Genda, kubanga oyo nze mwerondedde ammanyise mu b'amawanga amalala, ne mu bakabaka, ne mu bantu ba Yisirayeli. Era ndimulaga nga bw'ateekwa okubonaabona ennyo ku lwange.” Awo Ananiya n'agenda, n'ayingira mu nnyumba, n'amussaako emikono, n'amugamba nti: “Owooluganda Sawulo, Mukama Yesu yennyini eyakulabikira bwe wali mu kkubo ng'ojja, antumye oddemu okulaba, era ojjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.” Amangwago, ku maaso ge ne kuvaako ebintu ebiri ng'amagamba g'ebyennyanja, n'asobola okuddamu okulaba. N'agolokoka n'abatizibwa. Bwe yamala okulya emmere, n'addamu amaanyi. Awo Sawulo n'amala ennaku ntonotono ng'ali n'abayigirizwa mu Damasiko. Teyalwa, n'ayingira mu makuŋŋaaniro, ng'agenda ategeeza abantu nti Yesu ye Mwana wa Katonda. Bonna abaamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyayigganyanga ab'omu Yerusaalemu abakowoola erinnya eryo? Era si kye kyamuleeta ne wano abasibe, abatwale eri bakabona abakulu?” Kyokka Sawulo ne yeeyongera okuba n'amaanyi mu kuyigiriza kwe, n'asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko, ng'akakasa nti Yesu ye Kristo. Ennaku nnyingi bwe zaayitawo, Abayudaaya ne bateesa okutta Sawulo. Kyokka Sawulo n'ategeera olukwe lwabwe. Baamukuumanga ku nzigi emisana n'ekiro bamutte. Naye ekiro abayigirizwa be ne bamutwala ne bamussiza ku kisenge nga bamutadde mu kisero. Sawulo bwe yatuuka mu Yerusaalemu, n'agezaako okwetaba n'abayigirizwa, kyokka bo ne bamutya, kubanga tebakkiriza nti naye muyigirizwa. Kyokka Barunaba n'amutwala n'amwanjula eri abatume, n'abategeeza nga Sawulo bwe yali mu kkubo n'alaba Mukama, era nga Mukama bwe yayogera naye. Era n'abategeeza nga Sawulo bwe yali mu Damasiko n'ayogera n'obuvumu mu linnya lya Yesu. Sawulo n'abeera nabo mu Yerusaalemu nga yeetaaya, ng'agenda ayogera n'obuvumu mu linnya lya Mukama. N'ayogera era n'awaanyisaganyanga ebirowoozo n'Abayudaaya aboogera Oluyonaani, naye bo ne bagezaako okumutta. Abooluganda bwe baakimanya, ne bamutwala e Kayisaariya, ne bamuweereza e Taruso. Awo ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Buyudaaya bwonna ne Galilaaya ne Samariya ne kiba mirembe, era ne kinywezebwa, ne kyeyongera obunene, nga kissaamu Katonda ekitiibwa, nga ne Mwoyo Mutuukirivu akijjuza essanyu. Awo Peetero n'atambula wonna wonna, n'atuuka eri abakkiriza ab'e Lida. N'asangayo omuntu erinnya lye Ayineeya, eyali akoozimbye, nga tava ku kitanda okumala emyaka munaana. Peetero n'amugamba nti: “Ayineeya, Yesu Kristo akuwonya. Situka weeyalire.” Awo Ayineeya n'asituka. Abantu bonna abaali mu Lida ne mu Saroni ne bamulaba, ne bakkiriza Mukama. Mu Yoppa mwalimu omukazi erinnya lye Tabbiita, mu Luyonaani Doruka, ekitegeeza engabi. Tabbiita oyo yakolanga ebikolwa ebirungi bulijjo, era ng'agabira abaavu. Mu nnaku ezo n'alwala n'afa. Omulambo gwe ne bagunaaza ne baguteeka mu kisenge ekya waggulu. Yoppa kyali kumpi ne Lida. Awo abayigirizwa abaali e Yoppa bwe baawulira nti Peetero ali mu Lida, ne bamutumira abasajja babiri, ne bamugamba nti: “Tukwegayiridde, jjangu mangu gye tuli.” Awo Peetero n'asitula, n'agenda nabo. Bwe yatuukayo n'atwalibwa mu kisenge ekya waggulu. Bannamwandu bonna ne bamwetooloola nga bakaaba era nga bamulaga amakooti n'engoye endala Doruka bye yakola ng'akyali mulamu. Peetero n'abafulumya ebweru bonna, n'afukamira ne yeegayirira Katonda. N'akyukira omulambo, n'agamba nti: “Tabbiita, golokoka.” Awo Tabbiita n'azibula amaaso ge. Bwe yalaba Peetero, n'atuula. Peetero n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa. Awo n'ayita bannamwandu n'abakkiriza abalala, n'amubalaga nga mulamu. Ne kimanyibwa mu Yoppa yenna. Bangi ne bakkiriza Mukama. Peetero n'amala ennaku nnyingi mu Yoppa ewa Simooni, omuwazi w'amaliba. Mu Kayisaariya mwalimu omusajja erinnya lye Koruneeliyo, eyali omuduumizi w'ekibinja ky'eggye ly'Abarooma, ekyali kiyitibwa eky'Abayitale, Yali mujjumbizi wa ddiini, ye n'abantu be bonna, nga bassaamu Katonda ekitiibwa. Abayudaaya yabagabiranga ku bintu bye, era yasinzanga Katonda bulijjo. Lumu ku ssaawa nga mwenda ez'emisana n'alabikirwa, n'alabira ddala bulungi malayika wa Mukama ng'ajja gy'ali, era ng'amuyita nti: “Koruneeliyo!” Koruneeliyo n'amusimba amaaso ng'atya, n'amugamba nti: “Kiki Mukama wange?” Malayika n'amuddamu nti: “Katonda asanyukidde okwegayirira kwo n'okugaba kwo, era akusiimye ggwe. Kale kaakano tuma abasajja e Yoppa, baleete omuntu ayitibwa Simooni Peetero, asula ewa Simooni omuwazi w'amaliba, nnannyini nnyumba eri okumpi n'ennyanja.” Malayika wa Mukama eyamugamba ebyo bwe yagenda, Koruneeliyo n'ayita babiri ku baweereza be, n'omuserikale omu assaamu Katonda ekitiibwa, era nga ye omu ku abo abaamukuumanga. Bwe yamala okubategeeza byonna ebibaddewo, n'abatuma e Yoppa. Ku lunaku olwaddirira, bwe baali nga bakyali mu kkubo, nga banaatera okutuuka e Yoppa, Peetero n'alinnya waggulu ku nnyumba, ku ssaawa nga mukaaga ez'omu ttuntu, okusinza Katonda. Enjala n'emuluma n'ayagala okubaako ky'alya. Baali bakyakitegeka, n'aba ng'avudde ku nsi, n'alabikirwa. N'alaba eggulu nga libikkuse, era ekintu ne kissibwa wansi nga kifaanana ng'essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya. Mu yo nga mulimu buli ngeri yonna ey'ensolo, n'ey'ebyewalula, n'ey'ebinyonyi. Ne wabaawo eddoboozi erimugamba nti: “Peetero, golokoka otte, olye.” Peetero n'addamu nti: “Nedda, Mukama wange, sisobola, kubanga siryanga kintu kya muzizo, wadde ekitali kirongoofu.” Eddoboozi ne limugamba nate nti: “Katonda kye yalongoosa, tokiyitanga kya muzizo.” Ekyo kyaddibwamu emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ne kizzibwayo mu ggulu. Awo mu kiseera ekyo, Peetero bwe yali ng'akyasobeddwa, nga yeewuunya ky'alabye, abasajja abaatumibwa Koruneeliyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni gy'eri, ne batuuka, ne bayimirira ku mulyango. Ne babuuza nti: “Wano we wali omugenyi ayitibwa Simooni Peetero?” Awo Peetero bwe yali ng'akyalowooza ku ekyo ky'alabye, Mwoyo Mutuukirivu n'amugamba nti: “Laba abasajja basatu bakunoonya. Situka okke, ogende nabo nga tobuusabuusa, kubanga nze mbatumye.” Awo Peetero n'agenda eri abasajja, n'abagamba nti: “Nze nzuuno gwe munoonya. Nsonga ki ebaleese?” Ne bamuddamu nti: “Koruneeliyo, omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, omusajja omwegendereza assaamu Katonda ekitiibwa, era asiimibwa eggwanga lyonna ery'Abayudaaya, malayika omutuukirivu yamugamba akuyite, ogende ewuwe, awulire by'ogamba.” Awo n'abayingiza n'abasuza. Bwe bwakya enkya, Peetero n'asitula n'agenda nabo. N'abamu ku booluganda abaali e Yoppa ne bamuwerekerako. Olunaku olwaddirira ne batuuka e Kayisaariya. Koruneeliyo yali abalindiridde, era ng'akuŋŋaanyizza baganda be ne mikwano gye ennyo. Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira, Koruneeliyo n'amusisinkana, n'afukamira kumpi n'ebigere bye, n'amusinza. Kyokka Peetero n'amuyimusa nga bw'agamba nti: “Situka, nange ndi muntu buntu.” Peetero n'ayingira ng'agenda anyumya naye. N'asanga abantu bangi nga bakuŋŋaanye. N'abagamba nti: “Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nga bwe kiri eky'omuzizo, Omuyudaaya okutabagana n'ow'eggwanga eddala, wadde okumukyalira. Kyokka Katonda andaze nga sisaana kuyita muntu n'omu nti si mulongoofu, oba nti mubi. Kale bwe nayitibwa, kyennava nzikiriza okujja. Kati mbabuuza, nsonga ki gye mumpitidde?” Koruneeliyo n'addamu nti: “Ennaku bbiri eziyise, mu kiseera nga kino, ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, nali mu nnyumba yange nga nsinza Katonda. Mu kiseera ekyo ne ndaba omuntu ayambadde engoye ezimasamasa, ng'ayimiridde mu maaso gange. N'aŋŋamba nti: ‘Koruneeliyo, Katonda awulidde okwegayirira kwo, era asiimye okugaba kwo. Kale tuma e Yoppa, oyite omuntu ayitibwa Simooni Peetero, asula mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba aliraanye ku nnyanja.’ Amangwago nze kwe kukutumira, era okoze bulungi okujja. Kale kaakano tukuŋŋaanye wano mu maaso ga Katonda, okuwulira byonna Mukama by'akulagidde.” Awo Peetero n'atandika okwogera, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, era nga mu buli ggwanga ayaniriza buli muntu amussaamu ekitiibwa, n'akola eby'obutuukirivu. “Katonda yawa Abayisirayeli ekigambo kye, ng'abategeeza Amawulire Amalungi agaleeta emirembe, ng'ayita mu Yesu Kristo, Mukama wa byonna. Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya bwonna, ebyatandikira e Galilaaya, nga Yowanne amaze okutegeeza abantu babatizibwe. Katonda yajjuza Yesu Omunazaareeti Mwoyo Mutuukirivu era n'amaanyi. Yesu oyo, olw'okuba nga Katonda yali naye, yatambulanga wonna, ng'agenda akola ebirungi, era ng'awonya bonna abaajoogebwanga Sitaani. Era ffe tukakasa ebyo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemu. Baamukomerera ku musaalaba, ne bamutta. Kyokka Katonda n'amuzuukiza ku lunaku olwokusatu, era n'amusobozesa okulabibwa, si mu bantu bonna, wabula mu ffe, Katonda be yali amaze okulonda okukikakasa. Ye ffe abaalya naye era ne tunywa naye ng'amaze okuzuukira. “Yatulagira okutegeeza abantu be, era n'okubakakasa nti ye wuuyo, Katonda gwe yateekawo, okuba omulamuzi w'abalamu n'abafu. Abalanzi bonna gwe boogerako, nga bagamba nti: ‘Buli amukkiriza, asonyiyibwa ebibi bye olw'obuyinza bw'erinnya lye.’ ” Awo Peetero yali akyayogera ebyo, Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku bonna abaali bamuwuliriza. Abayudaaya abakkiriza, abajja ne Peetero okuva e Yoppa, ne basamaalirira, bwe baalaba nga n'ab'amawanga amalala Katonda abawadde ekirabo ekya Mwoyo Mutuukirivu, kubanga baabawulira nga boogera ennimi, era nga batendereza Katonda. Peetero n'agamba nti: “Abantu bano bafunye Mwoyo Mutuukirivu nga ffe bwe twamufuna. Kale waliwo ayinza okubagaana okubatizibwa n'amazzi?” Awo n'alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamusaba agira abeera nabo ennaku ntonotono. Awo abatume n'abooluganda abaali mu Buyudaaya, ne bawulira nga n'ab'amawanga amalala bakkirizza ekigambo kya Katonda. Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemu, abo abaali baagala ab'amawanga amalala bakomolebwe, ne bamunenya nga bagamba nti: “Wakyalira ab'amawanga amalala abatali bakomole, n'okulya n'olya nabo!” Awo Peetero n'abannyonnyola byonna ebyabaawo nga bwe byaddiriŋŋana, n'agamba nti: “Nali mu kibuga Yoppa nga nsinza Katonda, ne mba ng'avudde ku nsi, ne ndabikirwa ekintu ekiri ng'essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya, nga kikka okuva mu ggulu, ne kijja gye ndi. Bwe nakyetegereza, ne ndabamu ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, n'ebyewalula, n'ebinyonyi. Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba nti: ‘Peetero, situka otte, olye.’ Ne nziramu nti: ‘Nedda, Mukama wange! Siryanga kintu kitali kirongoofu, wadde eky'omuzizo.’ “Eddoboozi ne liddamu nate nga liva mu ggulu nti: ‘Katonda kye yalongoosa, tokiyitanga kya muzizo.’ Ekyo kyabaawo emirundi esatu, oluvannyuma ne kizzibwayo kyonna mu ggulu. Mu kiseera ekyo kyennyini, abasajja basatu abaava e Kayisaariya, abaatumibwa gye ndi, ne batuuka mu nnyumba mwe twali. Mwoyo Mutuukirivu n'aŋŋamba nti: ‘Genda nabo nga tobuusabuusa.’ Abooluganda bano omukaaga, nabo baagenda nange e Kayisaariya, era twayingira ffenna mu nnyumba ya Koruneeliyo. Koruneeliyo oyo n'atubuulira nga bwe yalaba malayika ng'ayimiridde mu nnyumba ye, era ng'amugamba nti: ‘Tuma e Yoppa, oyite Simooni Peetero, akutegeeze ebigambo ebinaakulokola ggwe, n'ab'ennyumba yo bonna.’ “Awo bwe natandika okwogera, Mwoyo Mutuukirivu n'abakkako nga bwe yakka ku ffe ku ntandikwa. Awo ne njijukira Mukama kye yagamba nti: ‘Yowanne yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutuukirivu.’ Kale oba nga Katonda yawa ab'amawanga amalala abo ekirabo ekyo, nga bwe yakiwa ffe bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze ani eyandisobodde okuziyiza Katonda?” Bwe baawulira ebyo, ne bakkakkana, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Ddala n'ab'amawanga amalala Katonda abawadde okwenenya bafune obulamu.” Abakkiriza bwe baasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo Siteefano mwe yattirwa, ne batambula, ne batuuka mu Foyinikiya, ne mu Kipuro ne mu Antiyookiya, nga tebayigiriza muntu mulala, wabula Abayudaaya bokka. Kyokka waaliwo abamu ku bo, ab'e Kipuro ne Kireene, bwe baali nga bagenda mu Antiyookiya, ne bayigiriza n'abatali Bayudaaya, ne babategeeza Amawulire Amalungi aga Mukama Yesu. Amaanyi ga Mukama gaali nabo, era abantu bangi ne bakkiriza, ne badda eri Mukama. Ebyo bwe byawulirwa abakkiriza Kristo ab'omu Yerusaalemu, bo ne batuma Barunaba mu Antiyookiya. Bwe yatuukayo, n'alaba nga Katonda bw'akwatiddwa abantu abo ekisa, n'asanyuka. N'abakubiriza bonna bamalirire mu mitima gyabwe okunywerera ku Mukama. Barunaba oyo, yali muntu mulungi, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'okukkiriza. Abantu bangi ne bakkiriza, ne basenga Mukama. Oluvannyuma Barunaba n'agenda e Taruso okunoonya Sawulo. Bwe yamulaba, n'amuleeta mu Antiyookiya. Ne bamala omwaka mulamba nga bali n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Mu Antiyookiya abayigirizwa mwe baasookera okuyitibwa Abakristo. Mu kiseera ekyo, abalanzi abamu ne bava e Yerusaalemu, ne baserengeta mu Antiyookiya. Omu ku bo, erinnya lye Agabo, Mwoyo Mutuukirivu n'amwogeza, n'alanga nti: “Wajja kubaawo enjala mu nsi yonna.” Enjala eyo yabaawo mu bufuzi bwa Kulawudiyo. Abayigirizwa ne basalawo, buli omu aweeyo nga bw'asobola, baweereze obuyambi eri abooluganda abali mu Buyudaaya. Ekyo ne bakikola, ne batuma Barunaba ne Sawulo batwale obuyambi obwo, babukwase abakulembeze b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Mu kiseera ekyo, kabaka Herode n'atandika okuyigganya abamu ku b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo. N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yowanne. Bwe yalaba ng'Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera n'akwata ne Peetero. Ekyo kyabaawo mu biseera by'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Bwe yamala okumukwata n'amuteeka mu kkomera, n'amukwasa abaserikale kkumi na mukaaga, bamukuume bana bana, ng'ayagala okumuleeta mu maaso g'abantu, ng'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako ewedde. Bw'atyo Peetero n'akuumirwa mu kkomera. Ekibiina ky'abakkiriza Kristo ne kinyiikira okumusabira eri Katonda. Mu kiro ekyakeesa olunaku Herode lwe yali ateeseteese okutwalirako Peetero eri ekibiina ky'abantu, Peetero yali yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, era nga n'abakuumi bali ku luggi bakuuma ekkomera, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, ekitangaala ne kibuna akasenge konna. Malayika n'akuba ku Peetero mu mbiriizi, n'amuzuukusa ng'agamba nti: “Golokoka mangu!” Awo enjegere ne ziva ku mikono gya Peetero ne zigwa. Malayika n'amugamba nti: “Weesibe olukoba lwo era oyambale engatto zo.” N'akola bw'atyo. Era n'amugamba nti: “Suulira omunagiro gwo, ongoberere.” Peetero n'afuluma, n'agoberera malayika. Kyokka n'atamanya nti malayika by'akola by'ebyo ddala. Yalowooza nti aloota buloosi. Bwe baayita ku bakuumi abasooka, ne ku bookubiri, ne batuuka ku luggi olw'ekyuma, oluyingira mu kibuga. Ne lubeggulirawo lwokka, ne bafuluma, ne batuuka mu luguudo. Ne batambulako akabanga, malayika n'amulekawo. Awo Peetero bwe yategeera ebibaddewo, n'agamba nti: “Kaakano ntegedde nga Mukama atumye malayika we, n'anzigya mu mikono gya Herode, era n'amponya ebyo byonna Abayudaaya bye babadde basuubira okunkolako.” Peetero ng'akyalowooza ku ekyo, n'agenda ku nnyumba ya Mariya, nnyina wa Yowanne Mariko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga beegayirira Katonda. Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'emiryango, omuwala omuweereza erinnya lye Rooda, n'ajja alabe akonkona. Olwategeera ng'eddoboozi lya Peetero, yenna n'ajjula essanyu, n'adduka n'addayo nga n'oluggi taluggudde, n'agamba nti: “Peetero ayimiridde wabweru ku luggi.” Bo ne bamugamba nti: “Olaluse?” Ye n'akakasa nti ky'agamba kya mazima. Ne bagamba nti: “Oyo malayika we.” Kyokka Peetero ne yeeyongera okukonkona. Bwe baggulawo ne bamulaba, ne basamaalirira. Ye n'abawenya n'omukono basirike, n'ababuulira nga Mukama bw'amuggye mu kkomera. Era n'abagamba nti: “Bino mubibuulire Yakobo n'abooluganda abalala.” N'avaayo, n'agenda awantu awalala. Awo bwe bwakya enkya, ne wabaawo akeetalo ka maanyi mu baserikale, nga beebuuzaganya Peetero gy'alaze. Herode bwe yamunoonya n'atamulaba, n'awozesa abakuumi, n'alagira battibwe. Awo n'ava mu Buyudaaya, n'aserengeta e Kayisaariya n'abeera eyo. Awo Herode n'asunguwalira abantu ab'e Tiiro ne Sidoni. Naye bo ne beetaba wamu ne bajja bamulabe. Ne bawooyawooya Bulasto eyakuumanga olubiri lwe, ne basaba Kabaka Herode emirembe, kubanga ensi ye, ye yaliisanga eyaabwe. Awo ku lunaku olwali olulagaanye, Herode n'ayambala ebyambalo bye eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, n'ayogera gye bali. Abantu ne bamuwaana nga bagamba nti: “Si muntu ye ayogera wabula Katonda ye ayogera!” Amangwago malayika wa Mukama n'akuba Herode, kubanga tawadde Katonda kitiibwa. N'aliibwa envunyu, n'afa. Naye ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okunywera n'okubuna mu bantu. Awo Barunaba ne Sawulo bwe baamaliriza omulimu gwabwe, ne bava e Yerusaalemu, ne baddayo nga bali ne Yowanne Mariko. Mu kibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali mu Antiyookiya, mwalimu abalanzi n'abayigiriza: Barunaba ne Simyoni eyayitibwanga Omuddugavu, ne Lukiyo ow'e Kireene, ne Manayeni eyakulira awamu n'omufuzi Herode, ne Sawulo. Bwe baali nga baweereza Mukama era nga basiiba, Mwoyo Mutuukirivu n'abagamba nti: “Munjawulire Barunaba ne Sawulo, bakole omulimu gwe mbayitidde.” Awo bwe baamala okusiiba n'okwegayirira Katonda, ne babassaako emikono, ne babatuma. Awo Barunaba ne Sawulo bwe baamala okutumibwa Mwoyo Mutuukirivu, ne baserengeta e Selewukiya, ne basaabala, ne bagenda e Kipuro. Bwe baatuuka e Salamisi, ne bayigiriza ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya. Baali ne Yowanne Mariko ng'abaweereza. Bwe baayitaayita mu kizinga kyonna okutuuka e Paafo, ne basanga Omuyudaaya omulaguzi, omulanzi ow'obulimba, erinnya lye Bari-Yesu. Yali wamu n'omufuzi ow'ekizinga ekyo, omusajja omugezi, erinnya lye Serugiyo Pawulo. Omufuzi oyo n'ayita Barunaba ne Sawulo, ng'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. Kyokka Eluma, amakulu nti omulaguzi, n'abawakanya ng'ayagala omufuzi aleme kukkiriza. Awo Sawulo, era amanyiddwa nga Pawulo, n'ajjula Mwoyo Mutuukirivu, n'asimba Eluma amaaso, n'agamba nti: “Ggwe omwana wa Sitaani! Ggwe omulabe w'obutuukirivu bwonna, ojjudde obukuusa bwonna. Tolirekayo kuggya bantu mu makubo ga Mukama amagolokofu? Kaakano Mukama ajja kukubonereza: ojja kuba muzibe, nga tolaba njuba okumala akaseera.” Amangwago ekifu n'ekizikiza ne bibikka amaaso ge, ne gaziba. N'awammanta ng'anoonya ow'okumukwata ku mukono. Awo omufuzi bwe yalaba ebibaddewo, n'akkiriza, nga yeewuunya nnyo okuyigiriza okufa ku Mukama. Awo Pawulo ne banne ne basaabala okuva e Paafo, ne batuuka e Peruga eky'omu Panfiliya. Yowanne ye n'abaawukanako, n'addayo e Yerusaalemu. Kyokka bo ne bava e Peruga, ne batuuka mu Antiyookiya eky'omu Pisidiya. Ku lunaku olwa Sabbaato ne bayingira mu kkuŋŋaaniro, ne batuula. Ebitundu ebiggyibwa mu mateeka ga Musa ne mu byawandiikibwa abalanzi bwe byaggwa okusoma, abakulu b'ekkuŋŋaaniro, ne batumira ba Pawulo nga bagamba nti: “Abooluganda, oba nga mulina ekigambo eky'okubuulira abantu, mukibabuulire.” Pawulo bwe yasituka n'abawenya n'omukono, n'agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, nammwe abalala abassaamu Katonda ekitiibwa, muwulire. Katonda w'Abayisirayeli yalonda bajjajjaffe, n'abafuula eggwanga eddene bwe baali mu nsi y'e Misiri. Oluvannyuma n'abaggyayo n'obuyinza bwe obungi. N'abeera nabo mu ddungu, okumala emyaka ng'amakumi ana, ng'abagumiikiriza. Bwe yamala okuzikiriza amawanga omusanvu agaali mu nsi y'e Kanaani, n'abawa ensi eyo okuba obutaka bwabwe. Emyaka ng'ebikumi bina mu ataano bwe gyayitawo, n'abawa abalamuzi, okutuusa mu biseera bya Samweli omulanzi. Awo bwe baasaba okuweebwa kabaka, Katonda n'abawa Sawulo, omwana wa Kiisi, ow'omu Kika kya Benyamiini, n'abafugira emyaka amakumi ana. “Bwe yamuggyaawo, n'abateerawo Dawudi okuba kabaka waabwe, Katonda gwe yayogerako nti: ‘Nzudde Dawudi omwana wa Yesse, ye musajja gwe nsiima, anaakolanga byonna bye njagala.’ “Katonda ng'atuukiriza ekyo kye yasuubiza, aleetedde Yisirayeli Omulokozi Yesu, ng'amuggya mu zzadde lya Dawudi. Yesu bwe yali nga tannatandika mulimu gwe, Yowanne yategeeza abantu ba Yisirayeli bonna beenenye babatizibwe. Era Yowanne bwe yali ng'amaliriza omulimu gwe, n'agamba abantu nti: ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri oyo gwe mulindirira, wabula ye anvaako mabega, era sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.’ “Mmwe abooluganda, bazzukulu ba Aburahamu, nammwe abalala abassaamu Katonda ekitiibwa, ebigambo bino eby'obulokozi byaweerezebwa ffe. Abantu b'omu Yerusaalemu, awamu n'abakulu baabwe, Yesu tebaamumanya nti ye mulokozi, wadde okutegeera ebigambo by'abalanzi ebisomebwa buli Sabbaato. Kyokka baabituukiriza, bwe baasalira Yesu omusango attibwe. Newaakubadde tebaazuula nsonga emussa, baasaba Pilaato, Yesu attibwe. “Bwe baamala okutuukiriza ebyawandiikibwa byonna ebimwogerako, ne bamuwanula ku musaalaba, ne bamuteeka mu ntaana. Kyokka Katonda n'amuzuukiza. N'amala ennaku nnyingi ng'alabikira abo abaayambuka naye e Yerusaalemu nga bava e Galilaaya. Abo kaakano be bamumanyisa mu bantu. “Kale Amawulire Amalungi ge tubaleetera gaagano nti: Katonda bwe yazuukiza Yesu, yatuukiriza ekyo kye yasuubiza bajjajjaffe, ku lwaffe bazzukulu baabwe, nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti: ‘Oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde.’ Okukakasa nti Katonda yamuzuukiza, takyaddamu kufa, Katonda kyava agamba nti: ‘Ndibawa emikisa emitukuvu era egy'enkalakkalira, gye nawa Dawudi.’ Ne mu Zabbuli endala agamba nti: ‘Tolireka mutukuvu wo kuvunda.’ Dawudi bwe yamala okukola emirimu Katonda gye yamuteekerateekera mu bulamu bwe, n'afa, n'aziikibwa awali bajjajjaabe, n'avunda. Kyokka oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda. N'olwekyo mmwe mwenna abooluganda, mutegeere nti ku bw'oyo, tubategeeza nga bwe muyinza okusonyiyibwa ebibi byammwe. Era byonna bye mutaayinza kuggyibwako mu mateeka ga Musa, buli akkiriza Yesu bimuggyibwako. “Kale mwekuume, ekyo kireme kubabaako, ekyayogerwa abalanzi nti: ‘Kale mmwe abanyooma, mwewuunye, muzikirire, kubanga nkola omulimu mu biseera byammwe, omulimu gwe mutalikkiriza, newaakubadde nga waliwo agubannyonnyola.’ ” Pawulo ne Barunaba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba beeyongere okubategeeza ebigambo ebyo ku Sabbaato eddirira. Bonna bwe baava mu kkuŋŋaaniro, bangi ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala abasoma Ekiyudaaya ne bagoberera Pawulo ne Barunaba. Mu kunyumya nabo, Pawulo ne Barunaba ne babakuutira banywerere mu kwesiga ekisa kya Katonda. Ku Sabbaato eyaddirira, kumpi buli muntu eyali mu kibuga n'ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. Abayudaaya bwe baalaba abantu abangi bwe batyo, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, era ne bamuvuma. Awo Pawulo ne Barunaba ne boogera n'obuvumu, ne bagamba nti: “Mmwe mubadde muteekwa okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mulaga mmwe mwennyini nga temusaanira kufuna bulamu obutaggwaawo, kale ka tubaleke, tugende eri ab'amawanga amalala, kubanga ekyo Mukama kye yatulagira okukola bwe yagamba nti: ‘Nkutaddewo obe ekitangaala mu b'amawanga amalala, obe omulokozi w'ensi zonna.’ ” Ab'amawanga amalala bwe baawulira ebyo, ne basanyuka, ekigambo kya Katonda ne bakissaamu ekitiibwa. Abo Katonda be yateekerateekera obulamu obutaggwaawo, ne bakkiriza. Ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakulu b'ekibuga n'abakazi abeekitiibwa era abajjumbizi b'eddiini, ne bayigganya Pawulo ne Barunaba, ne babagoba mu kitundu ekyo. Kyokka Pawulo ne Barunaba ne bakunkumulira abantu abo enfuufu ey'oku bigere byabwe, ne balaga mu Yikoniyo. Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutuukirivu. Awo Pawulo ne Barunaba bwe baatuuka mu Yikoniyo, era ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne bayigiriza. Abantu bangi nnyo, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bakkiriza. Naye Abayudaaya abamu abaagaana okukkiriza, ne bassa omutima omubi mu b'amawanga amalala okukyawa abakkiriza. Pawulo ne Barunaba ne bamalayo ebbanga ddene nga bayigiriza n'obuvumu ebya Mukama. Era Mukama n'akakasanga bye bayigiriza ku kisa kye, ng'abakozesa ebyewuunyo n'ebyamagero. Abantu b'omu kibuga ne beesalamu, abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya, abalala ne babeera ku ludda lw'abatume. Awo ab'amawanga amalala n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe, ne beekoba okulumba abatume, n'okubakuba amayinja. Bo bwe baakitegeera, ne baddukira mu Lisitura ne Derube, ebibuga by'e Likawooniya, ne mu bitundu ebibiriraanye. Ne babeera eyo nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi. Mu Lisitura mwalimu omusajja omugongobavu w'ebigere, nga mulema okuva lwe yazaalibwa, era nga tatambulangako. Yali atudde awo, n'awulira Pawulo by'ayogera. Pawulo bwe yamutunuulira n'alaba ng'akkiriza ng'ayinza okuwonyezebwa. Pawulo n'akangula ku ddoboozi n'agamba nti: “Situka oyimirire.” N'asituka mangu, n'atambula. Awo ekibiina ky'abantu bwe kyalaba Pawulo ky'akoze, ne kireekaana n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olulikoniyo nga kigamba nti: “Balubaale basse gye tuli nga bafaanana ng'abantu!” Barunaba ne bamuyita Zeewo, Pawulo ne bamuyita Erume, kubanga ye yayogera. Awo kabona wa Zeewo, eyalina essabo mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ku nzigi z'ekibuga ente n'ebimuli eby'okubambika, ng'ayagala abantu bonna bamwegatteko okutambira. Kyokka abatume Barunaba ne Pawulo bwe baawulira ekyo, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okukiwakanya, ne bafubutuka nga balaga mu bantu, nga bwe baleekaana nti: “Bannaffe, lwaki mukola ebyo? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe, ababaleetedde Amawulire Amalungi, mulyoke muleke ebyo ebitagasa, mudde eri Katonda Nnannyinibulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu. “Mu mirembe egyayita, Katonda yaleka abantu bonna ne bayisa nga bwe baayagalanga. Kyokka teyeekweka. Bulijjo yeeyolekeranga mu birungi by'akola, gamba abatonnyeseza enkuba, abaza ebibala byammwe mu biseera byabyo, abawa emmere, era ajjuza emitima gyammwe essanyu.” Newaakubadde baayogera ebyo, era kata balemwe okuziyiza abantu okubatambirira. Awo Abayudaaya abamu ne bava e Lisitura ne Yikoniyo, ne bafukuutirira abantu, ne bakuba Pawulo amayinja. Ne bamuwalula, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde. Kyokka abayigirizwa bwe baamwetooloola, n'asituka, n'ayingira mu kibuga. Olunaku olwaddirira, Pawulo ne Barunaba ne balaga e Derube. Pawulo ne Barunaba ne bategeeza abantu mu Derube Amawulire Amalungi, ne bafuna abayigirizwa bangi. Olwo ne baddayo mu Lisitura ne mu Yikoniyo, ne mu Antiyookiya eky'e Pisidiya, nga banyweza emyoyo gy'abayigirizwa, era nga babakuutira banyweze okukkiriza kwabwe. Ne babagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu bizibu bingi okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.” Bwe baamala okuteeka abakulembeze mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo, n'okusinza Katonda era nga bwe basiiba, ne babakwasa Mukama gwe bakkiriza. Ne bayita mu Pisidiya, ne batuuka mu Panfiliya. Ne bategeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Peruga, ne baserengeta mu Ataliya. Bwe baavaayo, ne basaabala ne baddayo mu Antiyookiya, mu kusooka bannaabwe gye baabakwasiza Katonda abayambe, bwe baali nga bagenda okutandika omulimu guno, gwe baali baakamaliriza. Bwe baatuukayo, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa, era nga bw'asobozesezza ab'amawanga amalala okukkiriza. Ne bamalayo ebbanga ddene nga bali n'abayigirizwa. Awo abantu abamu ne bava e Buyudaaya, ne bajja mu Antiyookiya, ne bayigiriza abooluganda nti: “Bwe mutakomolebwa ng'etteeka lya Musa bwe liragira, temuyinza kulokolebwa.” Pawulo ne Barunaba bwe baawakana ennyo nabo, ne kisalibwawo nti Pawulo ne Barunaba n'abamu ku bakkiriza ab'omu Antiyookiya, bagende e Yerusaalemu eri abatume n'abakulembeze b'abakkiriza, babalabe ku nsonga eyo. Awo bwe baamala okusibirirwa ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne bagenda. Ne bayita mu Foyinikiya ne mu Samariya, nga bagenda bannyonnyola ng'ab'amawanga amalala bwe bakyuse ne bakkiriza Katonda. Abooluganda bwe baawulira ebyo, ne basanyuka nnyo. Bwe baatuuka e Yerusaalemu, ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, awamu n'abatume n'abakulembeze b'abakkiriza, ne babaaniriza. Pawulo ne Barunaba ne babategeeza Katonda bye yabakozesa. Naye abamu ku bakkiriza ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo, ne basituka ne bagamba nti: “Ab'amawanga amalala bateekwa okukomolebwa n'okulagirwa okukwata Amateeka ga Musa.” Awo abatume n'abakulu b'abakkiriza ne bakuŋŋaana okwekkaanya ensonga eyo. Empaka bwe zaakalambira ennyo, Peetero n'asituka n'agamba nti: “Abooluganda, mumanyi nti mu nnaku ezaayita, Katonda yannonda mu mmwe, ntegeeze ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi, balyoke bakkirize. Katonda amanyi ebiri mu mitima gy'abantu, yakakasa nga bw'abasiima, bwe yabawa Mwoyo Mutuukirivu nga bwe yamutuwa ffe. Yalaga nti ffe nabo, tewali njawulo, kubanga yabasonyiwa ebibi byabwe olw'okukkiriza. Kale kaakano lwaki mukema Katonda ng'abakkiriza mubatikka emigugu, bajjajjaffe wadde ffe gye tutaasobola kwetikka? Wabula tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama Yesu, era nabo bwe batyo.” Awo bonna abaali bakuŋŋaanye, ne basirika, ne bawuliriza Pawulo ne Barunaba nga babategeeza ebyewuunyo n'ebyamagero Katonda bye yabakozesa mu b'amawanga amalala. Bwe baamala okwogera, Yakobo n'agamba nti: “Abooluganda, mumpulirize. Simooni annyonnyodde nga Katonda bwe yasooka okulaga nti alumirwa ab'amawanga amalala ng'abalondamu okuba ababe ddala. Ekyo kitabagana bulungi n'eby'abalanzi, nga bwe kyawandiikibwa nti: ‘Ebyo bwe biriggwa, ndidda, ne nzimba ennyumba ya Dawudi eyagwa. Ndigizimba mu kifo we yali, ngizzeewo. Abantu abalala n'ab'amawanga amalala bonna, be nayita okuba abantu bange balyoke banoonye Mukama. Mukama eyamanyisa ekyo okuva edda n'edda, bw'atyo bw'agamba.’ “Kyenva ŋŋamba nti tuleme kuteganya ba mawanga malala abakyuka ne badda eri Katonda. Wabula tubawandiikire, tubategeeze baleme kulya kintu na kimu ekiweereddwayo eri balubaale, beewale obwenzi, era baleme kulya nsolo zitugiddwa, wadde okulya omusaayi. Okuva edda ebyo ebyawandiikibwa Musa birina ababiyigiriza mu buli kibuga, era bisomebwa mu makuŋŋaaniro buli Sabbaato.” Awo abatume n'abantu abakulu, awamu n'ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, ne basalawo okwerondamu ababaka babatume mu Antiyookiya, bagende wamu ne Pawulo ne Barunaba. Ne balonda Yuda ayitibwa Barusabba, ne Siila, abasajja abakulu mu booluganda. Ne babakwasa ebbaluwa egamba nti: “Ffe baganda bammwe abatume n'abantu abakulu, tubalamusizza mmwe abooluganda abatali Bayudaaya, ab'omu Antiyookiya ne Siriya ne Kilikiya. Tuwulidde nti waliwo abamu mu ffe abajja ne babateganya olw'ebigambo bye baabagamba, sso nga ffe tetubatumanga. Kyetuvudde tukuŋŋaana, ne tusalawo okulonda n'okubatumira ababaka, bajje gye muli, nga bali n'abaagalwa baffe Barunaba ne Pawulo, abantu abaawaayo obulamu bwabwe olw'okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo. Kale tutumye Yuda ne Siila, bo bennyini bababuulire n'akamwa. “Mwoyo Mutuukirivu naffe, tusazeewo obutabatikka mugugu mulala, wabula bino ebitalekeka: mwewale okulya bye batambiridde balubaale, era mwewale okulya omusaayi wadde ensolo etugiddwa, era mwewale obwenzi. Bwe muneewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.” Awo abaatumibwa ne bagenda mu Antiyookiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne babakwasa ebbaluwa. Bwe baagisoma, ne basanyuka olw'ebyagirimu ebyabagumya. Yuda ne Siila nga nabo bwe baali abalanzi, ne boogera n'abooluganda ebigambo bingi nga babagumya. Bwe baamalayo ebbanga, abooluganda ne babasiibula mirembe, ne baddayo eri abaabatuma. [ Kyokka Siila ye n'asalawo okusigalayo.] Pawulo ne Barunaba ne bamala ekiseera mu Antiyookiya ne bannaabwe abalala, nga bategeeza era nga bayigiriza abantu ekigambo kya Mukama. Ennaku bwe zaayitawo, Pawulo n'agamba Barunaba nti: “Tuddeyo tulambule abooluganda abali mu buli bibuga gye twategeeza abantu ekigambo kya Mukama, tulabe nga bwe bali.” Barunaba n'ayagala batwale ne Yowanne Mariko. Kyokka Pawulo n'atasiima kugenda na muntu eyabaleka mu Panfiliya, n'atagenda nabo ku mulimu. Ne bawakana nnyo. Bwe baalemwa okukkiriziganya, kwe kwawukana, Barunaba n'agenda ne Mariko, ne basaabala ne balaga e Kipuro. Pawulo ye n'alonda Siila, ne bagenda, ng'abooluganda bamaze okubasabira Katonda abayambe. N'ayita mu Siriya ne mu Kilikiya, ng'agumya ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awo Pawulo n'atuuka e Derube n'e Lisitura. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoteewo, nga nnyina Muyudaaya omukkiriza mu Kristo, kyokka kitaawe nga Muyonaani. Abooluganda bonna, ab'omu Derube ne Yikoniyo, nga basiima nnyo Timoteewo oyo. Pawulo n'ayagala okugenda naye. Kyeyava amukomola, kubanga Abayudaaya abaali mu kitundu ekyo bonna, baali bamanyi nga kitaawe yali Muyonaani. Awo ne bayita mu bibuga, nga bakuutira abakkiriza, okukwata ebyasalibwawo abatume n'abantu abakulu abaali mu Yerusaalemu. Olwo ebibiina by'abakkiriza Kristo ne binywezebwa mu kukkiriza, era abantu ne babyegattangako buli lunaku. Ne bayita mu kitundu ky'e Furigiya n'e Galatiya, nga Mwoyo Mutuukirivu abagaanyi okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Asiya. Bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu kitundu eky'e Bitiniya, kyokka Mwoyo wa Yesu n'atabakkiriza. Bwe baayita ku Musiya, ne baserengeta e Turoowa. Ekiro Pawulo n'alabikirwa, n'alaba omuntu ow'omu Makedooniya ng'ayimiridde amwegayirira nti: “Jjangu e Makedooniya otuyambe.” Bwe yamala okulabikirwa, amangwago ne tusala amagezi tugende e Makedooniya, nga tutegedde nti Katonda atuyise okutegeeza abaayo Amawulire Amalungi. Ne tusaabala okuva e Turoowa, ne tugoba e Samoturakiya. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Neyapoli. Bwe twavaayo, ne tutuuka e Filippi, ekibuga ekikulu eky'e Makedooniya; ettwale ly'Abarooma. Ne tumalayo ennaku ntonotono. Ku lunaku lwa Sabbaato ne tufuluma mu kibuga, ne tugenda ku mabbali g'omugga, gye twalowooza nti eriyo ekifo gye basinziza Katonda. Ne tutuula ne twogera n'abakazi abaali bakuŋŋaanye. Omu ku bo, erinnya lye Lidiya, eyava mu kibuga Tiyatira, n'atuwuliriza. Yali mutunzi wa ngoye eza kakobe, era ng'assaamu Katonda ekitiibwa. Mukama n'aggula omutima gwe, n'akkiriza ebyo Pawulo bye yayogera. Ye n'ab'omu nnyumba ye bwe baamala okubatizibwa, n'atwegayirira ng'agamba nti: “Oba nga mulabye nti nzikiriza Mukama mu mazima, mujje mubeere ewange.” N'atukkirizisa. Awo olwatuuka, bwe twali tugenda mu kifo eky'okusinzizaamu Katonda, omuwala omuzaana eyalagulanga, era eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula kwe, n'atusisinkana. Omuwala oyo n'atugoberera nga bw'awowoggana nti: “Abantu bano baweereza ba Katonda Atenkanika, ababategeeza nga bwe muyinza okulokolebwa.” Ekyo n'akiddiŋŋananga okumala ennaku nnyingi. Naye Pawulo bwe yanakuwala, n'akyuka n'agamba lubaale nti: “Mu linnya lya Yesu nkulagira, muveeko.” Amangwago lubaale n'amuvaako. Bakama b'omuwala bwe baalaba ng'essuubi ery'okufuna ebintu liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siila, ne babawalaawala ne babatwala mu mbuga eri ab'obuyinza. Bwe baabatuusa eri abalamuzi, ne bagamba nti: “Abantu bano Bayudaaya era basasamaza ekibuga kyaffe. Bayigiriza empisa ffe Abarooma ze tutayinza kukkiriza wadde okugoberera.” Ekibiina ky'abantu nakyo ne kyegatta mu kubakuba. Abalamuzi ne bayuza engoye za Pawulo ne Siila, era ne balagira bakubwe emiggo. Bwe baamala okubakuba ennyo, ne babateeka mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo. Omukuumi w'ekkomera bwe yamala okulagirwa, n'abateeka mu kkomera eryomunda, amagulu gaabwe n'agassa mu nvuba. Ekiro nga mu ttumbi, Pawulo ne Siila ne beegayirira Katonda era ne bamutendereza mu nnyimba, n'abasibe abalala ne bawulira. Amangwago ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, ne kuyuuguumya ekkomera n'emisingi gyalyo. Awo enzigi z'ekkomera zonna ne zeggula, n'enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka. Omukuumi w'ekkomera bwe yazuukuka, n'alaba ng'enzigi z'ekkomera nzigule, n'asowola ekitala kye yette, ng'alowooza nti abasibe babombye. Kyokka Pawulo n'aleekaana nnyo nti: “Teweekolako kabi! Ffenna weetuli wano.” Awo omukuumi w'ekkomera n'atumya ettaala, n'ayingira mangu, n'agwa kumpi n'ebigere bya Pawulo ne Siila nga bw'akankana. N'abafulumya ebweru n'ababuuza nti: “Bassebo, kiki kye ŋŋwanira okukola ndyoke ndokolebwe?” Ne bamugamba nti: “Kkiriza Mukama Yesu, onoolokolebwa ggwe, n'ab'omu nnyumba yo bonna.” Awo ne bamutegeeza awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna ekigambo kya Mukama. Mu kiro ekyo kyennyini, omukuumi w'ekkomera n'abatwala, n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna. Olwo n'atwala Pawulo ne Siila mu nnyumba ye, n'abawa ebyokulya. N'asanyuka nnyo awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna, olw'okukkiriza Katonda. Obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale baabwe mu kkomera, nga bagamba nti: “Abantu abo mubate.” Awo omukuumi w'ekkomera n'agamba Pawulo nti: “Abalamuzi balagidde muteebwe. Kale kaakano mufulume, mugende mirembe.” Kyokka Pawulo n'abagamba nti: “Baatukubidde mu lujjudde nga tetuwozezza na kuwoza, sso nga tuli Barooma. Ate kaakano batuta batya mu kyama? Nedda. Bo bennyini be baba bajja batute.” Abaserikale ebigambo ebyo ne babibuulira abalamuzi. Abalamuzi bwe baawulira nga Pawulo ne Siila Barooma, ne batya. Ne bajja ne babeetondera, ne babafulumya ebweru w'ekkomera ne babeegayirira bave mu kibuga. Awo Pawulo ne Siila ne bava mu kkomera, ne bagenda ewa Lidiya. Bwe baamala okulaba abooluganda n'okubagumya, ne bavaayo. Ne batambula, ne bayita mu Anfipoli ne mu Apolooniya, ne batuuka e Tessalonika, eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya. Pawulo n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, nga bwe yakolanga bulijjo. Ku Sabbaato essatu ezaddiriŋŋana n'awaanyisaganyanga ebirowoozo n'abantu, nga bw'ajuliza mu byawandiikibwa. N'annyonnyola era n'alaga nti: “Kristo yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira.” Era nti: “Yesu oyo gwe mbategeeza, ye Kristo.” Abamu ku bo ne bakkiriza, ne beegatta ku Pawulo ne Siila. N'Abayonaani bangi abassaamu Katonda ekitiibwa, n'abakazi abeekitiibwa bangi, nabo ne babeegattako. Kyokka Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bafuna abantu ababi abaali mu katale, ne beekuŋŋaanya, ne basasamaza ekibuga. Ne balumba ennyumba ya Yasoni nga banoonya Pawulo ne Siila, babaleete mu lukiiko lw'ekibuga. Bwe bataabasangamu, kwe kuwalaawala Yasoni n'abamu ku booluganda, ne babatwala eri abalamuzi, nga bwe baleekaana nti: “Abantu bano abaleeta emitawaana buli wantu, bazze ne wano, era Yasoni ye abasuza. Bonna bajeemera amateeka ga Kayisaari nga bagamba nti: ‘Waliwo kabaka omulala ayitibwa Yesu.’ ” Ekibiina ky'abantu kyonna awamu n'abakulu b'ekibuga bwe baawulira ebyo, ne basasamala. Yasoni ne banne bwe baamala okweyimirirwa, ne bateebwa. Obudde bwe bwaziba, abooluganda ne basindika Pawulo ne Siila e Beroya. Bwe baatuuka eyo, ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya. Abantu baayo baali balungi okusinga ab'e Tessalonika, kubanga baayanguwa okukkiriza ekigambo kya Katonda, nga buli lunaku beekenneenya ebyawandiikibwa, okulaba oba nga Pawulo ne Siila bye boogera bituufu. N'olwekyo bangi ku bo ne bakkiriza, n'Abayonaani bangi abakazi abeekitiibwa n'abasajja, nabo ne bakkiriza. Awo Abayudaaya ab'e Tessalonika bwe baawulira nga Pawulo ategeezezza abantu ekigambo kya Katonda ne mu Beroya, ne bajjayo, ne bajagalaza era ne basasamaza abantu baayo. Amangwago abooluganda kwe kuweereza Pawulo ku lubalama, kyokka Siila ne Timoteewo bo ne basigala mu Beroya. Abo abaawerekera Pawulo ne bamutuusa mu Ateene. Pawulo bwe yamala okubalagira nga Siila ne Timoteewo bwe basaana okujja gy'ali amangu, ne baddayo. Awo Pawulo bwe yali mu Ateene ng'alindirira Siila ne Timoteewo, n'alaba ng'ekibuga kijjudde ebifaananyi bya balubaale, n'alumwa mu myoyo. N'awaanyisaganyanga ebirowoozo mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'ab'amawanga amalala abassaamu Katonda ekitiibwa. Era buli lunaku n'akolanga bw'atyo n'abantu abaabanga mu katale. Awo bakalimagezi abamu, abayitibwa Abeepikuro n'Abasitoyiki ne bawakananga naye. Abamu ne bagamba nti: “Ayagala kwogera ki ono ataliiko ky'amanyi?” Abalala ne bagamba nti: “Afaanana ng'ayigiriza ku balubaale abaggya.” Kyebaava boogera batyo, kubanga yali ayigiriza ku Yesu ne ku kuzuukira. Awo ne bamuyita n'ajja mu Arewopaago olukiiko olukulu, ne bagamba nti: “Oyinza okutubuulira ku kuyigiriza kuno okuggya kw'oyogerako? Ebimu ku ebyo by'oyogera, tetubiwulirangako. Twagala tubitegeere.” (Ab'e Ateene n'abagenyi abaabangamu, tebaakolanga kintu kirala, wabula okwogera oba okuwuliriza ebirowoozo ebiggya.) Awo Pawulo n'ayimirira mu Arewopaago, n'agamba nti: “Mmwe abasajja ab'e Ateene, ndaba nti mujjumbira nnyo eddiini, kubanga bwe mbadde mpitaayita mu kibuga kyammwe, ne ndaba bye musinza era ne nsanga ekifo ky'ebitambiro awawandiikiddwako nti: ‘KYA LUBAALE ATAMANYIDDWA.’ Oyo gwe musinza nga temumumanyi, ye wuuyo nze gwe mbabuulira. “Ye Katonda eyakola ensi ne byonna ebigirimu, ye Mukama w'eggulu n'ensi, era tabeera mu masabo gazimbiddwa bantu. Era taliiko kye yeetaaga bantu kumuweereza, kubanga ye, ye abawa obulamu, n'okussa omukka, era ye abawa buli kintu. Yasooka kutonda muntu omu, mu oyo ne muvaamu abantu bonna ababunye ensi. Yamala kubateerawo biseera na nsalo ez'ebifo mwe banaabeeranga, balyoke bamunoonyenga, bawammante, nga basuubira okumulaba. Sso nno tali wala wa buli omu ku ffe, kubanga ‘Ku bubwe tuba balamu, tutambula, tubeerawo.’ Era ng'abamu ku bayiiya bammwe bwe bagamba: ‘Tuli zzadde lye.’ Kale nga bwe tuli ezzadde lya Katonda, tetusaanye kulowooza nti Katonda afaanana ebintu ebikolebwa mu zaabu oba ffeeza oba mu mayinja, abantu bye bakola mu magezi gaabwe. “Kyokka Katonda teyafa ku ebyo abantu bye baakolanga olw'obutamanya bwabwe. Naye kaakano alagira abantu bonna wonna we bali, beenenye, kubanga yateekawo olunaku, omuntu gwe yalonda, lw'agenda okusalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Yakakasa abantu bonna, bwe yazuukiza omuntu oyo.” Bwe baawulira Pawulo ng'ayogera ku kuzuukira, abamu ne baŋŋoola, abalala ne bagamba nti: “Ekyo alikitubuulira olulala.” Awo Pawulo n'ava we bali n'agenda. Naye abasajja abamu ne bamwegattako, ne bakkiriza Yesu. Mu abo mwalimu Diyoniziyo ow'omu lukiiko olukulu Arewopaago, n'omukazi erinnya lye Damari, awamu n'abalala. Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ava mu Ateene, n'agenda e Korinto. N'asangayo Omuyudaaya erinnya lye Akwila, enzaalwa y'omu Ponto, ne mukazi we Prisikila. Baali kye bajje bave mu Yitaliya, kubanga Kulawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna bave mu Rooma. Pawulo n'agenda gye bali, n'abeera nabo, era n'akola nabo, kubanga bonna baalina omulimu gwe gumu, ogw'okukola eweema. Buli Sabbaato Pawulo n'awaanyisaganyizanga ebirowoozo mu kkuŋŋaaniro, ng'agezaako okukkirizisa Abayudaaya n'Abayonaani. Siila ne Timoteewo bwe baatuuka nga bava mu Makedooniya, Pawulo ne yeemalira ku kutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, ng'ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye Kristo. Bwe baamukaayanya era ne bamuvuma, n'akunkumula engoye ze n'abagamba nti: “Bwe mulizikirira, musango gwammwe. Nze siriiko musango. Okuva kati nja kugenda eri ab'amawanga amalala.” N'avaayo, n'alaga mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusto, assaamu Katonda ekitiibwa. Ennyumba ye yali eriraanye ekkuŋŋaaniro. Krispo omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bakkiriza Mukama. Era ab'e Korinto bangi abaawulira, ne bakkiriza ne babatizibwa. Awo Mukama n'alabikira Pawulo ekiro, n'amugamba nti: “Totya, weeyongere okwogera, tosirika. Nze ndi wamu naawe. Tewali ajja kukukola kabi, kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.” Awo Pawulo n'amalayo omwaka mulamba n'ekitundu ng'ayigiriza abantu ekigambo kya Katonda. Galiyo bwe yali nga ye afuga Akaya, Abayudaaya ne beekoba, ne bakwata Pawulo ne bamutwala mu mbuga, ne bagamba nti: “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri emenya amateeka.” Kyokka Pawulo yali agenda okwogera, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti: “Singa wabaddewo ekisobyo oba omusango omunene, nandisobodde okubawuliriza mmwe Abayudaaya, naye oba ng'ebyebuuzibwa bifa ku bigambo, ne ku mannya, ne ku mateeka gammwe, mmwe mubikoleko, nze sijja kubiyingiramu.” N'abagoba awasalirwa emisango. Awo bonna ne bakwata Sositene, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo n'atafaayo. Pawulo n'amala ennaku nnyingi mu Korinto. Oluvannyuma n'asiibula abooluganda, n'asaabala ne Prisikila ne Akwila, ne bagenda e Siriya. Bwe yali mu Kenkereya, n'amwako enviiri ze, nga bwe yali yeeyamye. Bwe baatuuka mu Efeso, bo n'abalekayo, ye n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'akubaganya ebirowoozo n'Abayudaaya. Bwe baamusaba ayongere okubeera nabo, n'atakkiriza. N'abasiibula, n'abagamba nti: “Katonda bw'alyagala, ndikomawo gye muli.” N'asaabala, n'ava mu Efeso. Bwe yatuuka e Kayisaariya, n'ayambuka n'alamusa ekibiina ky'abakkiriza Kristo, n'alyoka aserengeta mu Antiyookiya. Bwe yamalayo akabanga, n'avaayo n'agenda ng'ayitaayita mu Galatiya ne mu Furigiya, ng'anyweza abakkiriza bonna. Awo Omuyudaaya, erinnya lye Apollo, enzaalwa y'omu Alekisanderiya, n'ajja mu Efeso. Yali mwogezi mulungi, era ng'amanyi nnyo ebyawandiikibwa. Yali ayigiriziddwa Ekkubo lya Mukama, era yeewangayo nnyo okwogera n'okuyigiriza obulungi ebifa ku Yesu, wabula ng'amanyi kubatiza kwa Yowanne kwokka. Awo Prisikila ne Akwila bwe baamuwulira ng'ayogera n'obuvumu mu kkuŋŋaaniro, ne bamutwala ne bongera okumunnyonnyola obulungi Ekkubo lya Katonda. Apollo bwe yayagala okugenda mu Akaya, Abooluganda ne bamugumya, ne bawandiikira abayigirizwa baayo bamwanirize. Bwe yatuukayo, n'ayamba nnyo abo Katonda be yakwatirwa ekisa ne bafuna okukkiriza, kubanga yawakanyanga nnyo Abayudaaya, n'abasingira mu maaso g'abantu, ng'ajuliza mu byawandiikibwa, okukakasa nti Yesu ye Kristo. Awo Apollo bwe yali mu Korinto, Pawulo n'ayita mu bitundu eby'engulu, n'atuuka mu Efeso, n'asangayo abamu ku bakkiriza. N'ababuuza nti: “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutuukirivu?” Ne bamuddamu nti: “Tetuwuliranganako nti waliwo ne Mwoyo Mutuukirivu.” Ye n'ababuuza nti: “Kale okubatizibwa kwammwe kwali kwa ngeri ki?” Ne bamuddamu nti: “Okwo Yowanne kwe yaleeta.” Pawulo n'abagamba nti: “Yowanne yabatiza abantu nga ke kabonero akalaga nti beenenyezza, ng'abagamba bakkirize oyo amuvaako emabega, ye Yesu.” Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu. Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutuukirivu n'abakkako, ne boogera ennimi, ne balanga. Bonna awamu baali abasajja nga kkumi na babiri. Awo Pawulo n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayogera n'obuvumu, ng'awaanyisaganya nabo ebirowoozo, ng'agezaako okubakkirizisa ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda. N'amala emyezi esatu ng'akola bw'atyo. Naye abamu bwe bafuuka abakakanyavu ne bagaana okukkiriza, era ne bavumanga Ekkubo lya Mukama mu maaso g'abantu, n'abavaako, n'agenda n'abayigirizwa, n'ayogereranga mu ssomero lya Turaano buli lunaku. N'akolanga bw'atyo okumala emyaka ebiri. Abantu bonna ab'omu Asiya, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bawulira ekigambo kya Mukama. Katonda n'akozesanga Pawulo ebyamagero bingi. Ebitambaala n'engoye ebyavanga ku mubiri gwe byatwalirwanga abalwadde ne bawonyezebwa, n'emyoyo emibi ne gibavaako. Awo Abayudaaya abamu abaatambulatambulanga nga bagoba emyoyo emibi ku bantu, ne beetulinkiriza okukozesa erinnya lya Mukama Yesu okugigoba, nga bagigamba nti: “Nkulagira mu linnya lya Yesu, Pawulo gw'ategeeza abantu.” Waaliwo abaana musanvu aba kabona omukulu Omuyudaaya, erinnya lye Sukeva, abaakola ekyo. Naye omwoyo omubi ne gubaddamu nti: “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe be ani?” Awo omuntu eyaliko omwoyo omubi n'ababuukira, n'abasinza amaanyi n'abawangula, ne badduka nga bali bwereere, nga baliko ebiwundu. Ekyo ne kimanyibwa abantu bonna, Abayudaaya n'Abayonaani ab'omu Efeso. Bonna ne bajjula entiisa, erinnya lya Mukama Yesu ne liweebwa ekitiibwa. Bangi ku bakkiriza ne bajja, ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu. Era bangi ku abo abaakolanga eby'obulogo ne bakuŋŋaanya wamu ebitabo byabwe, ne babyokya ng'abantu bonna balaba. Omuwendo gw'ensimbi ezibigula bwe gwabalirirwa, ne guweza ebitundu bya ffeeza emitwalo etaano. Bwe kityo ekigambo kya Mukama ne kigenda nga kyeyongera okubuna n'okunywera. Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ateesa okuyita mu Makedooniya ne mu Akaya, alyoke agende e Yerusaalemu. N'agamba nti: “Bwe ndimala okutuukayo, nteekwa okugenda n'e Rooma.” N'atuma e Makedooniya babiri ku abo abaamuyambanga, Timoteewo ne Erasto, kyokka ye n'agira ng'akyasigadde mu Asiya. Mu kiseera ekyo ne wabaawo akeegugungo ak'amaanyi mu Efeso, olw'Ekkubo lya Mukama. Omusajja ayitibwa Demetiriyo omuweesi, eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa lubaale omukazi Arutemi, omulimu gwe gwaleeteranga abaweesi obugagga bungi. Oyo n'akuŋŋaanya abaweesi bonna abaakolanga omulimu ogwo, n'agamba nti: “Bannange, mumanyi ng'obugagga bwaffe buva mu mulimu guno. Naye mulaba era muwulira nga Pawulo asenzesenze, era akyusizza abantu bangi, si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna, ng'agamba nti: ‘Abakolebwa abantu si Katonda.’ Tuli mu kabi, si lwa mulimu gwaffe kunyoomebwa kyokka, naye abantu bajja kunyoomoola essabo lya lubaale omukazi Arutemi oweekitiibwa, asinzibwa Asiya yonna n'ensi endala zonna, era ekitiibwa kye kijja kuggwaawo.” Bwe baawulira ebyo ne bajjula obusungu, ne baleekaana nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!” Awo ekibuga kyonna ne kibuna akatabanguko. Abantu ne bakwata Gaayo ne Arisitaruuko ab'e Makedooniya abaatambulanga ne Pawulo. Abantu bonna ne bafubutuka, ne beeyiwa mu kifo ky'emizannyo. Pawulo n'ayagala okugenda eri ekibiina ky'abantu, kyokka abayigirizwa ne bamugaana. N'abamu ku bakungu ab'omu Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamusaba aleme kugezaako kugenda mu kifo ky'emizannyo, kubanga abantu baali mu kajagalalo, nga baleekaana, abamu nga boogera kino, abalala nga boogera kiri, era bangi baali tebamanyi na nsonga ebakuŋŋaanyizza. Ne baggya Alekizanda mu kibiina ky'abantu, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Awo Alekizanda n'abawenya n'omukono, yennyonnyoleko eri abantu. Naye bwe baamanya nga Muyudaaya ne baleekaanira wamu okumala essaawa nga bbiri, nga bagamba nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!” Omuwandiisi w'ekibuga bwe yasirisa abantu, n'agamba nti: “Abasajja Abeefeso, ani atamanyi ng'ekibuga ky'Abeefeso kye kikuuma essabo lya Arutemi Oweekitiibwa, awamu n'ekifaananyi kye ekyava mu ggulu? Kale ekyo nga bwe watali ayinza kukiwakanya, musaanidde okukkakkana, muleme kukola kintu kyonna mu kwanguyiriza, kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo, era abatavumye lubaale waffe omukazi. Kale oba nga Demetiriyo ne baweesi banne balina gwe bavunaana, enkiiko weeziri n'abalamuzi weebali, eyo gye baba bawoleza. Naye oba nga mulina ekirala kye muvunaana, kinaatereezebwa mu lukuŋŋaana olubaawo bulijjo, kubanga tuyinza okuvunaanibwa olw'akeegugungo kano aka leero. Tetulina nsonga gye tuyinza kuwa olw'olukuŋŋaana luno.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'agumbulula abantu. Akeegugungo bwe kakkakkana, Pawulo n'atumya abakkiriza n'abagumya, n'abasiibula, n'avaayo n'agenda e Makedooniya. Bwe yamala okuyita mu bitundu ebyo, ng'agenda ababuulira ebigambo eby'okubagumya, n'atuuka e Buyonaani, n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ng'anaatera okusaabala okugenda e Siriya, Abayudaaya ne bamusalira olukwe, kyeyava asalawo okuyita e Makedooniya. N'awerekerwako Sopateri mutabani wa Puuro ow'e Beroya, ne Arisitaruuko ne Sekundo ab'e Tessalonika, ne Gaayo ow'e Derube, ne Timoteewo, ne Tukiko ne Turofimo ab'omu Asiya. Abo ne batukulembera ne batulinda mu Turoowa. Ennaku ez'emigaati egitazimbulukusiddwa bwe zaggwa, ne tusaabala okuva e Filippi. Bwe waayitawo ennaku ttaano, ne tubasisinkana mu Turoowa, gye twamala ennaku omusanvu. Awo ku lunaku olwaddirira Sabbaato, bwe twakuŋŋaana okuliira awamu ng'abooluganda Pawulo nga bwe yali ow'okusitula enkeera, n'alwawo ng'ayogera nabo okutuusa ettumbi. Mu kisenge mwe twakuŋŋaanira mwalimu ettaala nnyingi. Pawulo bwe yalwawo ng'ayogera, omulenzi erinnya lye Ewutuuko, eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi, n'awanuka mu kalina eyookusatu n'agwa wansi, ne bamuggyawo ng'afudde. Pawulo n'akka, n'akutama w'ali n'amuwambaatira, n'agamba nti: “Temweraliikirira, akyalimu obulamu.” Awo n'addayo waggulu, n'amenyaamenyamu omugaati n'alyako, n'ayogera nabo okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo. Omulenzi ne bamuggyawo nga mulamu, ne basanyuka nnyo. Ffe ne tusaabala mu lyato, ne tulaga mu Asso gye twali ab'okuggya Pawulo nga bwe yatulagira, kubanga ye yali wa kutuukayo ng'ayita ku lukalu. Bwe yatusisinkana mu Asso, n'asaabala mu lyato ne tugenda e Mituleene. Ne tusaabala ne tuvaayo. Ku lunaku olwaddirira ne tutuuka mu maaso ga Kiyo. Ate olwaddako ne tutuuka e Samo, enkeera ne tutuuka e Mileeto. Pawulo yali ateesezza okuyita mu Efeso, aleme kulwa mu Asiya. Yayagala ayanguwe, Pentekoote bwe kiba kisobose, emusange mu Yerusaalemu. Awo Pawulo bwe yali mu Mileeto, n'atumya mu Efeso, n'ayita abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo bamusisinkane. Bwe bajja, n'abagamba nti: “Mumanyi bulungi nga bwe nabeera nammwe okuviira ddala ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya. Naweereza Mukama n'obwetoowaze bwonna, era mumanyi nga bwe nabonaabona ennyo olw'enkwe Abayudaaya ze bansaliranga. Mumanyi nga tewali kya mugaso na kimu kye saababuulira, era kye saabayigiriza mu maaso g'abantu bonna ne mu maka gammwe. Nalabulanga Abayudaaya n'Abayonaani bakyuke okuva mu bibi byabwe, badde eri Katonda, era bakkirize Mukama waffe Yesu. Kaakano ŋŋenda e Yerusaalemu, nga mpalirizibwa mu mwoyo, nga simanyi birimbaako. Wabula Mwoyo Mutuukirivu antegeeza mu buli kibuga nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde. Naye sifaayo oba mba mulamu oba nfa, ekikulu kwe kutuukiriza omulimu Mukama Yesu gwe yankwasa, ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'ekisa kya Katonda. “Kaakano nze mmanyi nga mmwe mwenna, be nayitaayitangamu nga mbategeeza Obwakabaka bwa Katonda, temukyaddayo kundaba. Kyenva mbalumiriza, olwaleero nti bwe walibaawo azikirira, teguliba musango gwange, kubanga saagayaala. Nabategeeza byonna Katonda by'abaagaza. Mwekuume mmwe mwennyini, mukuume n'abantu bonna Mwoyo Mutuukirivu be yabakwasa. Mulabirirenga ekibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda kye yeefunira n'omusaayi ogugwe yennyini. “Mmanyi nti bwe ndivaawo, abantu abali ng'emisege emikambwe baliyingira mu mmwe, ne batasaasira kibiina ky'abakkiriza. Ne mu mmwe mulivaamu abantu abaliyigiriza eby'obulimba, basikirize abayigirizwa okubagoberera. Kale mwekuume, era mujjukire nga bwe namala emyaka esatu, nga siyosa ekiro n'emisana okubuulirira buli omu mu mmwe, nga bwe nkaaba n'amaziga. “Kaakano mbakwasa Katonda abakuume, n'ekigambo ekifa ku kisa kye kibayambenga kibazimbe, era kibafunyise omugabo awamu n'abo bonna abatukuzibwa. Seegombanga ffeeza oba zaabu, wadde kyambalo kya muntu n'omu. Mmwe mumanyi ng'emikono gyange gino, gye gyakolanga ebyo nze n'abo abaabanga nange bye twetaaganga. Ebyo byonna nabikola okubalaga nti bwe tutyo bwe tusaana okukolanga emirimu, tulyoke tuyambenga abateeyinza, nga tujjukira ebigambo bya Mukama Yesu, eyagamba nti: ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ” Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n'afukamira nabo bonna, ne beegayirira Katonda. Bonna ne bakaaba nnyo amaziga, ne bawambaatira Pawulo, ne bamunywegera. Ekyasinga okubanakuwaza kwe kubagamba nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okumutuusa ku lyato. Bwe twamala okwawukana nabo, ne tusaabala, ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Roodesi. Bwe twava eyo, ne tutuuka e Patara. Eyo gye twasanga eryato eryali liraga e Foyinikiya, ne tulisaabala ne tugenda. Bwe twalengera Kipuro, ne tukireka ku luuyi olwa kkono, ne tulaga e Siriya, ne tugoba e Tiiro, kubanga eyo gye baali baagala okutikkulira ebintu. Eyo twasangayo abayigirizwa, ne tumalayo ennaku musanvu. Ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, abo ne bagamba Pawulo aleme kugenda Yerusaalemu. Ennaku ezo bwe zaggwaako, ne tuvaayo. Bonna awamu n'abakazi n'abaana ne batuwerekerako okututuusa ebweru w'ekibuga. Ffenna ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja ne twegayirira Katonda. Ne tusiibulagana, ffe ne tusaabala mu lyato, bo ne baddayo ewaabwe. Bwe twamaliriza olugendo olw'oku nnyanja lwe twatandikira e Tiiro, ne tutuuka e Putolemaayi, ne tulamusa abooluganda, ne tumala nabo olunaku lumu. Ku lunaku olwaddirira ne tuvaayo, ne tutuuka e Kayisaariya. Ne tuyingira mu nnyumba ya Filipo, eyategeezanga abantu Amawulire Amalungi, ne tubeera naye. Yali omu ku abo omusanvu abaalonderwa mu Yerusaalemu. Yalina bawala be bana embeerera abaalanganga. Bwe twamalayo ennaku eziwerako, Agabo omulanzi n'atuuka ng'ava e Buyudaaya. N'ajja gye tuli, n'akwata olukoba lwa Pawulo, n'alwesiba amagulu n'emikono, n'agamba nti: “Mwoyo Mutuukirivu agamba nti: ‘Bwe batyo Abayudaaya abali e Yerusaalemu bwe balisiba nnannyini lukoba luno, era balimuwaayo eri ab'amawanga amalala.’ ” Bwe twawulira ekyo, ffe n'abalala bonna abaaliwo, ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemu. Kyokka ye n'addamu nti: “Lwaki mukaaba okunafuya omutima gwange? Nze neetegese si kusibibwa kwokka, wabula n'okufiira mu Yerusaalemu, olw'erinnya lya Mukama Yesu.” Bwe twalemwa okumukkirizisa, ne tumuleka ne tugamba nti: “Mukama ky'ayagala kikolebwe.” Bwe waayitawo ennaku, ne twetegeka ne twambuka e Yerusaalemu. Abamu ku bayigirizwa ab'omu Kayisaariya ne batuwerekera, ne batutuusa ew'omusajja ayitibwa Munasoni, ow'e Kipuro, omu ku bayigirizwa abaasooka, eyali ow'okutusuza. Bwe twatuuka e Yerusaalemu, abayigirizwa ne batwaniriza n'essanyu. Olunaku olwaddirira, Pawulo n'agenda wamu naffe ewa Yakobo. Abakulu bonna ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo baali bakuŋŋaanye. Pawulo bwe yamala okubalamusa, n'abategeeza byonna Katonda bye yamukozesa mu b'amawanga amalala. Bo bwe baabiwulira, ne bagulumiza Katonda. Kyokka ne bagamba Pawulo nti: “Owooluganda, naawe olaba nti waliwo Abayudaaya nkumi na nkumi abaakyuka ne bakkiriza era nga bonna bakyakuuma butiribiri amateeka ga Musa. Bawulidde nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu mawanga amalala okuleka amateeka ga Musa, era nti obagamba baleme okukomola abaana baabwe, wadde okugoberera empisa z'Ekiyudaaya. Kale bibe bitya? Tebaaleme kuwulira ng'ozze. N'olwekyo kola kino kye tukugamba. Tulina wano abasajja bana abeeyama obweyamo. Batwale weetabe wamu nabo mu mukolo ogw'okutukuzibwa, era obasasulire, balyoke bamwebwe enviiri. Olwo abantu bonna banaamanya nti bye baawulira ku ggwe si bituufu, wabula nti okwata amateeka ga Musa. Naye ab'amawanga amalala abakkiriza, twabawandiikira ne tubategeeza kye twasalawo nti baleme kulyanga biweereddwayo eri balubaale, wadde okulya omusaayi, oba ensolo etugiddwa, era beewale obwenzi.” Awo Pawulo n'atwala abasajja abo. Ku lunaku olwaddirira ne yeetaba wamu nabo mu mukolo ogw'okutukuzibwa. N'ayingira mu Ssinzizo okumanyisa ennaku ze banaamala mu kutukuzibwa, era n'ekiseera we banaaweerayo ekirabo ku lwa buli omu ku bo. Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya abamu abaava mu Asiya, ne balaba Pawulo ng'ali mu Ssinzizo. Ne basasamaza abantu bonna, ne bakwata Pawulo nga bwe baleekaana nti: “Abasajja Abayisirayeli, mutuyambe! Ono ye muntu agenda ng'ayigiriza abantu mu buli kifo, banyoomoole eggwanga lyaffe, n'amateeka ga Musa, era n'ekifo kino. Ate kaakano aleese n'Abayonaani mu Ssinzizo, n'ayonoona ekifo kino ekitukuvu.” Ekyo baakyogera kubanga baali balabye Turofimo ow'e Efeso ng'ali ne Pawulo mu kibuga, ne bateerera nti Pawulo amuyingizizza mu Ssinzizo. Ekibuga kyonna ne kitabanguka, abantu ne bagugumuka ne bakwata Pawulo ne bamuwalaawala, ne bamufulumya ebweru w'Essinzizo. Amangwago enzigi ne ziggalwawo. Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka eri omukulu w'abaserikale nti Yerusaalemu kyonna kijagaladde. Teyalwa, n'atwala abaserikale n'abakulu baabwe, n'aserengeta eri ekibiina ky'abantu. Bo bwe baamulaba ng'ali n'abaserikale, ne balekera awo okukuba Pawulo. Omukulu w'abaserikale n'agenda eri Pawulo n'amukwata, n'alagira asibibwe n'enjegere bbiri. N'abuuza nti: “Ono ye ani, era akoze ki?” Abamu mu kibiina ky'abantu ne baleekaana nga bagamba kino, abalala nga bagamba kirala. Olw'okuleekaana okwo, n'atasobola kumanya kituufu. N'alagira okutwala Pawulo mu kigo. Pawulo bwe yatuusibwa ku madaala, abaserikale ne bamusitula, kubanga abantu baali beetabangudde. Bonna baali bamugoberera nga bwe baleekaana nti: “Mutte!” Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu kigo, n'agamba omukulu w'abaserikale nti: “Onzikiriza mbeeko kye nkutegeeza?” Omukulu w'abaserikale n'amubuuza nti: “Omanyi Oluyonaani? Si ggwe Mumisiri oli eyaleeta akajagalalo mu nnaku ezo, n'atwala abantu abatemu enkumi ennya mu ddungu?” Pawulo n'addamu nti: “Nze ndi Muyudaaya, enzaalwa y'omu Taruso eky'omu Kilikiya, ekimanyiddwa obulungi. Nkwegayiridde, nzikiriza mbeeko kye ŋŋamba abantu.” Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala, n'abawenya n'omukono. Bwe baasiriikirira, n'ayogera nabo mu lulimi Olwebureeyi, n'agamba nti: “Abasajja abooluganda era bassebo, muwulire ensonga gye mbawoleza kaakano.” Bwe baawulira ng'ayogera Lwebureeyi, ne beeyongera okusirika. N'agamba nti: “Nze ndi Muyudaaya, enzaalwa y'omu Taruso eky'omu Kilikiya. Nakulira mu kibuga kino, ne njigirizibwa omusomesa Gamaliyeeli okukwata amateeka ga bajjajjaffe, ne njijumbira nnyo ebya Katonda, nga nammwe mwenna bwe mukola kati. Ne njigganya ab'Ekkubo eryo okutuuka ne ku kubatta. Ne nkwata abasajja n'abakazi, ne mbateeka mu kkomera. Ssaabakabona n'abantu abakulu mu ggwanga bayinza okunjulira mu ekyo. Bo bampa n'ebbaluwa nzitwalire bannaabwe ab'omu Damasiko. Ne ŋŋenda okukwata abantu abo, mbaleete e Yerusaalemu nga basibe, babonerezebwe. “Awo olwatuuka, bwe nali nga ntambula, nga nnaatera okutuuka e Damasiko nga mu ttuntu, amangwago okwakaayakana okw'amaanyi okwava mu ggulu ne kunneetooloola. Ne ngwa wansi, ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba nti: ‘Sawulo, Sawulo! Lwaki onjigganya?’ Ne nziramu nti: ‘Ggwe ani Mukama wange?’ N'aŋŋamba nti ‘Nze Yesu Omunazaareeti gw'oyigganya.’ Abantu abaali nange ne balaba okwakaayakana okw'amaanyi kyokka ne batawulira ddoboozi ly'oyo eyayogera nange. Ne ŋŋamba nti: ‘Nkole ki Mukama wange?’ Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Golokoka ogende e Damasiko, eyo gy'onootegeerezebwa byonna by'olagiddwa okukola.’ Okwakaayakana okw'amaanyi ne kunziba amaaso. Abaali nange ne bankwata ku mukono, ne bantuusa mu Damasiko. “Mu Damasiko mwalimu omusajja erinnya lye Ananiya, omwegendereza mu kukwata amateeka, era assibwamu ekitiibwa Abayudaaya baayo bonna. N'ajja n'ayimirira we ndi, n'agamba nti: ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso.’ Mu kiseera ekyo kyennyini amaaso gange ne gazibuka, ne mmulaba. N'agamba nti: ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere ky'ayagala, olabe Omutuukirivu we, era owulire eddoboozi lye, kubanga ojja kumumanyisa mu bantu bonna ng'obategeeza ebyo by'owulidde era ne by'olabye. Kale kaakano lwaki olwa? Situka obatizibwe, onaazibweko ebibi byo nga weegayirira Katonda.’ “Bwe nali nga nkomyewo e Yerusaalemu era nga ndi mu Ssinzizo nsinza ne ndabikirwa nga ndi ng'aloota, ne ndaba Mukama ng'aŋŋamba nti: ‘Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemu, kubanga abaamu tebajja kukkiriza by'obategeeza ku lwange.’ Ne nziramu nti: ‘Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti abakukkiriza nabateekanga mu kkomera era nga nabakubiranga mu makuŋŋaaniro. N'omujulirwa wo Siteefano bwe yattibwa, nange kennyini naliwo, era nassa kimu n'abo abaamutta, ne nkuuma n'engoye zaabwe.’ Ye n'aŋŋamba nti: ‘Genda, kubanga njija kukutuma wala mu b'amawanga amalala.’ ” Abantu baamuwuliriza okutuusa lwe yayogera ekigambo ekyo. Olwo ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bagamba nti: “Muggyeewo, kubanga omuntu ow'engeri eyo tasaanidde kuba mulamu!” Bwe beeyongera okuleekaana nga bwe bakasuka n'engoye zaabwe waggulu, era nga bwe bafuumuula enfuufu mu bbanga, omukulu w'abaserikale n'alagira batwale Pawulo mu kigo bamukubise embooko eriko amalobo agasuna, bazuule kye bamuvunaana, nga baleekaana bwe batyo. Pawulo bwe baamala okumusiba n'enkoba, n'abuuza omukulu w'ekibinja ky'abaserikale eyali ayimiridde awo nti: “Mukkirizibwa okukuba omuntu Omurooma nga tannasalirwa musango kumusinga?” Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale olwawulira ekyo, n'agenda eri omukulu w'abaserikale n'amugamba nti: “Ogenda kukola ki? Omusajja ono Murooma.” Awo omukulu w'abaserikale n'agenda eri Pawulo n'amugamba nti: “Mbuulira, oli Murooma?” Pawulo n'addamu nti: “Weewaawo.” Omukulu w'abaserikale n'addamu nti: “Nze okufuna Oburooma kyantwalako ebintu bingi.” Pawulo n'amugamba nti: “Nze nazaalibwa ndi Murooma.” Amangwago, abo abaali bagenda okumubonyaabonya ne bamuleka, n'omukulu w'abaserikale bwe yamala okutegeera nti asibye Omurooma, n'atya. Ku lunaku olwaddirira, omukulu w'abaserikale n'ayagala okumanya ensonga Abayudaaya gye bavunaana Pawulo. Kwe kumusumulula, era n'alagira bakabona abakulu n'ab'Olukiiko bonna okukuŋŋaana. N'aserengesa Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe. Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'Olukiiko, n'agamba nti: “Abasajja abooluganda, neegendereza okutuusa ku lunaku lwa leero nga sirina kinnumya mutima mu maaso ga Katonda.” Awo Ssaabakabona Ananiya n'alagira abo abaali okumpi ne Pawulo bamukube emimwa. Pawulo n'agamba nti: “Ggwe ekisenge ekyasiigibwa erangi enjeru, Katonda alikukuba. Otudde okunnamula ng'osinziira mu mateeka, ate n'olagira okunkuba sso ng'amateeka gakigaana.” Abo abaali bayimiridde okumpi ne bagamba nti: “Ovuma Ssaabakabona wa Katonda!” Pawulo n'agamba nti: “Abooluganda, mbadde simanyi nga ye Ssaabakabona, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: ‘Toyogeranga bubi ku mukulu wa ggwanga lyo.’ ” Pawulo bwe yamanya ng'abali mu lukiiko, abamu Basaddukaayo, abalala nga Bafarisaayo, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Abooluganda, nze ndi Mufarisaayo, mwana w'Abafarisaayo. Mpozesebwa lwa kubanga nnina essuubi ery'okuzuukira kw'abafu.” Bwe yayogera ekyo, ne wasitukawo empaka wakati w'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo. Olukiiko ne lwesalamu, kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, tewali bamalayika, wadde emyoyo. Naye Abafarisaayo byonna ebyo babikkiriza. Ne wabaawo okuyoogaana kungi, era abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo ne bayimirira, ne bawakana n'amaanyi nga bagamba nti: “Tetulaba kibi ku muntu ono. Kyandiba nga malayika oba omwoyo, gwe gwogedde naye.” Empaka bwe zaakalambira, omukulu w'abaserikale n'atya nti sikulwa nga Pawulo bamukutulamu. N'alagira abaserikale baserengete mu kibiina ky'abantu, bamubaggyeko lwa maanyi, bamutwale mu kigo. Mu kiro ekyaddirira, Mukama n'ayimirira awali Pawulo n'amugamba nti: “Guma omwoyo, kubanga nga bwe wammanyisa mu Yerusaalemu, era bw'otyo bw'oteekwa okummanyisa ne mu Rooma.” Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bateesa ne beerayirira nga bwe bagamba nti tebajja kulya kantu konna wadde okunywa, nga tebanatta Pawulo. Abaakola olukwe olwo bwe batyo, baali basukka mu makumi ana. Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagamba nti: “Twerayiridde obutakomba ku kantu nga tetunnaba kutta Pawulo. Kale nno kaakano mmwe n'olukiiko, mutume eri omukulu w'abaserikale aserengese Pawulo gye muli, nga muli ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako. Ffe twetegese okumutta nga tannatuuka gye muli.” Kyokka mutabani wa mwannyina Pawulo n'ategeera olukwe lwabwe. N'agenda n'ayingira mu kigo, n'alabula Pawulo. Pawulo n'ayita omu ku bakulu b'ebibinja by'abaserikale, n'amugamba nti: “Twala omuvubuka ono eri omukulu w'abaserikale, alina ky'ayagala okumubuulira.” N'amutwala, n'amutuusa eri omukulu w'abaserikale, n'agamba nti: “Omusibe Pawulo ampise, n'ansaba ndeete omuvubuka ono gy'oli, mbu alina ky'ayagala okukugamba.” Omukulu w'abaserikale n'akwata omuvubuka ku mukono, n'amuzza ku bbali, n'amubuuza nti: “Kiki ky'oyagala okuŋŋamba?” Ye n'agamba nti: “Abakulu b'Abayudaaya bateesezza okukusaba oserengese Pawulo mu lukiiko enkya, nga bali ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako. Kyokka ggwe tobakkiriza, kubanga waliwo abasajja abasoba mu makumi ana, abajja okumuteega. Beerayiridde obutalya kantu konna wadde okunywa, nga tebannamutta. Era kaakano beeteeseteese, balindirira ky'onoogamba.” Omukulu w'abaserikale n'amusiibula, nga bw'amukuutira nti: “Tobaako omuntu n'omu gw'otegeeza nti ombuulidde ebigambo bino.” Awo omukulu w'abaserikale n'ayita babiri ku bakulu b'ebibinja n'agamba nti: “Mutegeke abaserikale ebikumi bibiri wamu n'ab'embalaasi nsanvu, n'ab'amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaariya ku ssaawa ssatu ez'ekiro. Era mutegeke embalaasi ze banaatwalirako Pawulo, bamutuuse eri omufuzi Felikisi.” Olwo n'awandiika ebbaluwa egamba nti: “Kulawudiyo Lusiya alamusa omufuzi oweekitiibwa ennyo Felikisi. Abayudaaya baakwata omusajja oyo, era baali bagenda kumutta. Bwe nategeera nga Murooma, ne ŋŋenda n'abaserikale, ne mmubaggyako. Olw'okwagala okumanya kye bamuvunaana ne mmutwala mu lukiiko lwabwe. Ne nzuula nti talina kye yakola kimusaanyiza kufa, wadde okusibibwa mu kkomera. Bwe nategeezebwa nti Abayudaaya baali bategese olukwe okumutta, ne nsalawo okumuweereza gy'oli. Ne ndagira abamuvunaana bajje bamuvunaanire mu maaso go.” Abaserikale ne bakola nga bwe baalagirwa. Ne batwala Pawulo ekiro ekyo, ne bamutuusa mu Antipatiri. Ku lunaku olwaddirira, ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda naye, bo ne baddayo mu kigo. Bwe baamutuusa e Kayisaariya, ne bawa omufuzi ebbaluwa, ne bamukwasa ne Pawulo. Bwe yagisoma, n'abuuza ekitundu Pawulo gy'asibuka. Bwe yamanya nga w'e Kilikiya, n'amugamba nti: “Omusango gwo ndiguwulira abakuvunaana nga bazze.” N'alagira, Pawulo akuumirwe mu lubiri lwa Herode. Bwe waayitawo ennaku ttaano, Ssaabakabona Ananiya n'agenda n'abamu ku bantu abakulu mu ggwanga, ne munnamateeka omu ayitibwa Terutuulo, ne bawawaabira Pawulo eri omufuzi. Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atandika okumulumiriza bw'ati: “Oweekitiibwa ennyo Felikisi, obukulembeze bwo obw'amagezi butuleetedde obutebenkevu, era buluŋŋamizza ebintu bingi. Ekyo tukisiima bulijjo era mu buli kifo, nga tukwebaliza ddala nnyo. Naye obutakulwisa nnyo, nkusaba otuwulirize katono olw'ekisa kyo. “Omusajja ono twamuzuula nga muntu wa mutawaana. Ajeemesa Abayudaaya abali mu buli kifo, era ye mukulembeze w'ekibiina kya Banazaareeti. Yagezaako n'okwonoona Essinzizo ne tumukwata, [tumusalire omusango ng'amateeka gaffe bwe gali. Kyokka omukulu w'abaserikale Lusiya n'ajja n'amutuggyako lwa maanyi, n'alagira abamuvunaana okujja gy'oli.] Naawe wennyini bw'onoomubuuza ojja kumanya ebifa ku ebyo byonna bye tumuvunaana.” Abayudaaya nabo ne bamuwagira nti bwe bityo bwe biri. Pawulo, omufuzi bwe yamuwenya okwogera, n'agamba nti: “Ssebo mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula abantu b'eggwanga lino. Njija kuwoza n'obuvumu. “Ggwe wennyini bw'onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nnyambuka e Yerusaalemu okusinza. Tebansanga nga mpakana na muntu n'omu mu Ssinzizo, oba mu kkuŋŋaaniro oba mu kifo ekirala kyonna mu kibuga, nga nsasamaza abantu. Era tebayinza kukuwa bukakafu bw'ebyo bye bannumiriza kaakano. Wabula njatula kino mu maaso go nti nsinza Katonda wa bajjajjaffe, nga ngoberera Ekkubo bo lye bayita ekkyamu. Era nzikiriza ebyo byonna ebiri mu Mateeka ga Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi. Nnina essuubi mu Katonda nabo bennyini lye balina nti abalungi n'ababi balizuukira, kyenva nnyiikira bulijjo okuba n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu. “Bwe waayitawo emyaka mingi, ne ŋŋenda mu Yerusaalemu okutwalira abaavu ab'omu ggwanga lyange eby'okubayamba, n'okuwaayo ebirabo. Bwe nali nga nkola ebyo ne bansanga mu Ssinzizo, nga mmaze okukola omukolo ogw'okutukuzibwa. Saalina kibiina kya bantu, era tewaaliwo luyoogaano. Kyokka waaliwo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya, be bandisaanye okuba wano mu maaso go, bannumirize oba nga balina kye banvunaana. Oba bano bennyini abali wano boogere oba nga balina omusango gwe baazuula ku nze bwe nawozesebwa mu lukiiko lwabwe, okuggyako kino ekimu kyokka kye nayogera nga nnyimiridde mu bo nti: ‘Mumpozesa olwaleero, olw'okwogera ku kuzuukira kw'abafu.’ ” Naye kubanga Felikisi yali amanyi eby'Ekkubo eryo, n'ayimiriza omusango ng'agamba nti: “Lukiya omukulu w'abaserikale bw'alijja, ne ndyoka nsala omusango gwammwe.” N'alagira omukulu w'ekibinja ky'abaserikale okukuuma Pawulo nga musibe, wabula ng'alekerwa eddembe era nga tewali mukwano gwe n'omu aziyizibwa kumuweereza. Bwe waayitawo ennaku, Felikisi n'ajja ne Durusila mukazi we Omuyudaaya. N'atumya Pawulo n'amuwuliriza ng'ayogera ku bigambo by'okukkiriza Kristo Yesu. Kyokka Pawulo bwe yali ng'annyonnyola ku butuukirivu ne ku muntu okwefuga, ne ku lunaku Katonda lw'agenda okusalirako omusango, Felikisi n'atya, n'agamba nti: “Kaakano genda, bwe ndifuna ebbanga ndikuyita.” Era muli yali asuubira nti Pawulo anaabaako ky'amuwa. Kyeyavanga amuyita emirundi emingi anyumye naye. Bwe waayitawo emyaka ebiri, Porukiyo Festo n'atwala obukulu bwa Felikisi. Felikisi oyo olw'okwagala asiimibwe Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe. Festo bwe yatuuka mu kitundu kye, n'amala ennaku ssatu, n'ava e Kayisaariya n'ayambuka e Yerusaalemu. Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamutegeeza bye bavunaana Pawulo. Ne basaba Festo ono abakwatirwe ekisa, Pawulo aleetebwe e Yerusaalemu. Baali bategese olukwe okuttira Pawulo mu kkubo. Festo n'addamu nti: “Pawulo akuumirwa mu Kayisaariya, era nze njija kuddayo mangu. Kale abakulembeze mu mmwe bagende nange, oba ng'omusajja oyo yakola ekintu ekitasaana, bamulumirize.” Festo bwe yamala nabo ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaariya. Olunaku olwaddirira, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi, n'alagira baleete Pawulo. Bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemu ne bayimirira nga bamwetoolodde, ne bamulumiriza emisango mingi era eminene, gye bataasobola kukakasa. Pawulo ne yeerwanako n'agamba nti: “Sikolanga kintu na kimu ekimenya amateeka g'Abayudaaya, oba ekyonoona Essinzizo, wadde okujeemera Kayisaari.” Festo olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Oyagala okugenda e Yerusaalemu owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?” Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe ya Kayisaari ey'obulamuzi, era we nteekwa okuwozesebwa. Sirina kintu na kimu kye nasobya ku Bayudaaya, nga naawe bw'omanyidde ddala obulungi. Oba nga namenya etteeka, ne nkola ekintu ekinsaanyiza okuweebwa ekibonerezo eky'okuttibwa, sigaana kufa. Naye oba nga bye bannumiriza si bya mazima, tewali ayinza kumpaayo gye bali. Njulidde Kayisaari.” Awo Festo bwe yamala okuteesaamu n'ab'olukiiko n'addamu nti: “Ojulidde Kayisaari, kale eri Kayisaari gy'oligenda.” Bwe waayitawo ennaku ntonotono, Kabaka Agripa ne mukazi we Berunike ne bajja e Kayisaariya okwaniriza Festo. Bwe baamalayo ennaku eziwera, Festo n'ayogera ku Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja, Felikisi gwe yaleka nga musibe. Bwe nagenda e Yerusaalemu, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga ly'Abayudaaya ne bamulumiriza, ne basaba mmusalire omusango okumusinga. Nze ne mbaddamu nti: ‘Si mpisa y'Abarooma okusalira omuntu omusango okumusinga, nga tannasisinkana na bamuwawaabira, n'asobola okwerwanako mu musango gwe bamuvunaana.’ “N'olwekyo bwe bajja wano, ssaalwa. Ku lunaku olwaddirira, ne ntuula mu ntebe ey'obulamuzi, ne ndagira baleete omusajja oyo. Abamuvunaana bwe baayimirira ne batamuvunaana musango na gumu omubi, nga nze bwe nali ndowooza. Wabula baawakana naye ku bintu ebimu ebifa ku ddiini yaabwe, ne ku muntu Yesu eyafa, Pawulo ye gw'ategeeza abantu mulamu. “Bwe nasoberwa ku bigambo ebyo, ne mmubuuza oba ng'ayagala okugenda e Yerusaalemu awoleze eyo emisango egyo. Kyokka Pawulo n'ajulira, n'asaba akuumibwe okutuusa Kayisaari lw'alimusalira omusango. Nze kwe kulagira akuumibwe okutuusa lwe ndimuweereza ewa Kayisaari.” Agripa n'agamba Festo nti: “Nange nandyagadde okuwulira omuntu oyo.” Festo n'addamu nti: “Onoomuwulira enkya.” Enkeera Agripa ne Berunike ne bajjira mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu kifo awasalirwa emisango, nga bali wamu n'abakulu b'abaserikale n'abantu abeekitiibwa mu kibuga ekyo. Festo n'alagira, Pawulo n'aleetebwa. Awo Festo n'agamba nti: “Kabaka Agripa, era nammwe mwenna abali naffe wano, mulaba omusajja ono, Abayudaaya bonna gwe bansaba mu Yerusaalemu ne wano, nga baleekaana nti: ‘Tasaana kuba mulamu!’ Naye nze nalaba nti talina kye yakola kimusaanyiza kuttibwa. Kyokka bwe yajulira Kayisaari, ne nsalawo okumuweerezaayo. Wabula sirina kikakafu kye nnaawandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta mu maaso gammwe, naddala mu maaso go Kabaka Agripa. Bw'anaamala okubuuzibwa, ndyoke nfune kye mpandiika, kubanga ndaba nga si kituufu okuweereza omusibe n'otolaga bimuvunaanibwa.” Agripa n'agamba Pawulo nti: “Okkiriziddwa okuwoza.” Awo Pawulo n'agolola omukono, n'atandika okuwoza nti: “Kabaka Agripa, neesiimye nnyo okuwoleza mu maaso go olwaleero ebyo byonna Abayudaaya bye banvunaana, n'okusingira ddala kubanga omanyi bulungi empisa z'Abayudaaya, n'ebyo bye bawakanamu, n'enjawukana zaabwe. Kyenva nkwegayirira ompulirize n'obugumiikiriza. “Abayudaaya bonna bamanyi obulamu bwange okuva mu buto. Bamanyi nga bwe nabeera okuva olubereberye nga ndi mu bantu bange, era ne bwe nali mu Yerusaalemu. Okuva edda bamanyi, era singa baagala, bayinza okukakasa nga okuva olubereberye nali mu kibiina ekisingira ddala okukwata eddiini yaffe, nali Mufarisaayo. Kaakano nnyimiridde wano okusalirwa omusango kubanga nsuubira ekyo Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe, era ebika byaffe ekkumi n'ebibiri kye birindirira nga bisinza Katonda emisana n'ekiro. Olw'okusuubira bwe ntyo, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira, ayi kabaka. Lwaki mugamba nti Katonda okuzuukiza abafu kye kintu kye mutayinza kukkiriza? “Nze nzennyini nalowoozanga nti nteekwa okukola kyonna kye nsobola okuyigganya erinnya lya Yesu Omunazaareeti. Era ekyo kye nakola mu Yerusaalemu. Nafuna obuyinza okuva eri bakabona abakulu, ne nteeka abakkiriza bangi mu kkomera, era bwe baasalirwanga emisango egy'okuttibwa, nange nasiimanga. Emirundi mingi nababonerezanga mu makuŋŋaaniro gonna, nga mbawaliriza beegaane enzikiriza yaabwe. Ate bwe neeyongera okubasunguwalira, ne mbayigganyanga ne mu bibuga eby'ebweru. “Bwe nali ku ekyo, nga ŋŋenda e Damasiko, nga mmaze okufuna obuyinza n'ebiragiro okuva eri bakabona abakulu, ayi kabaka, nga ndi mu kkubo mu budde obw'ettuntu, ne ndaba okwakaayakana okwava mu ggulu nga kusinga okwaka kw'enjuba, ne kunneetooloola nze n'abaali nange mu lugendo. Ffenna ne tugwa wansi. Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba mu lulimi Olwebureeyi nti: ‘Sawulo, Sawulo! Lwaki onjigganya? Kirumya ggwe okusamba ku miwunda.’ Ne ŋŋamba nti: ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama n'addamu nti: ‘Nze Yesu gw'oyigganya. Kyokka golokoka oyimirire. Nkulabikidde ndyoke nkufuule omuweereza wange, akakasa ebyo mw'ondabidde, n'ebyo mwe nnaakulabikiranga. Ndikuwonya abantu b'eggwanga lyo n'ab'amawanga amalala gye ndikutuma okubazibula amaaso, balyoke bave mu kizikiza, badde mu kitangaala, era bave mu buyinza bwa Sitaani, badde eri Katonda, balyoke basonyiyibwe ebibi byabwe, era bafunire wamu omugabo n'abo abatukuzibwa olw'okukkiriza.’ “N'olwekyo, Kabaka Agripa, saawakanya kulabikirwa okwava mu ggulu. Nasookera ku b'omu Damasiko, nzuuyo ku b'omu Yerusaalemu, ne ku b'omu Buyudaaya bwonna ne ku b'amawanga amalala, ne mbategeeza beenenye, badde eri Katonda, era bakole ebikolwa ebiraga nti beenenyezza. Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Ssinzizo, ne bagezaako okunzita. Kyokka Katonda ankuumye okutuusa ku lunaku lwaleero, era nnyimiridde nga ntegeeza abakulu n'abato ebyo byennyini abalanzi ne Musa bye baayogera nti bigenda kubaawo. Baagamba nti Kristo ateekwa okubonyaabonyezebwa abe omubereberye mu kuzuukira, atuuse ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala ekitangaala eky'obulokozi.” Pawulo bwe yawoza bw'atyo, Festo n'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Pawulo olaluse! Ebingi bye wayiga bikulalusizza.” Pawulo n'agamba nti: “Oweekitiibwa Festo, siraluse. Ebigambo bye njogera bya mazima era bya magezi. Kabaka bino abimanyi era mbimubuulira nga sitya, kubanga nkakasa nti tewali na kimu ku byo ky'atamanyi, kubanga tebyakolebwa mu nkiso. Kabaka Agripa, okkiriza abalanzi? Mmanyi ng'obakkiriza.” Agripa n'agamba Pawulo nti: “Mu kaseera akatono oyagala okunsendasenda onfuule omugoberezi wa Kristo!” Pawulo n'agamba nti: “Akaseera ne bwe kaba katono oba kanene, nze kye nsaba Katonda, si ggwe wekka naye n'abo bonna abampuliriza olwaleero, bafuuke nga nze, okuggyako okusibibwa kuno.” Awo kabaka, n'omufuzi, ne Berunike, n'abalala bonna, ne basituka. Bwe baafuluma ne bagambagana nti: “Omuntu oyo takolanga kintu na kimu kimusaanyiza kufa oba kusibibwa.” Agripa n'agamba nti: “Omuntu oyo yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaari.” Awo bwe kyamala okusalibwawo tuyite ku nnyanja okugenda mu Yitaliya, Pawulo n'abasibe abalala ne baweebwayo eri Yuliyo omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, ekiyitibwa ekya Agusto. Ne tusaabala mu lyato ery'e Aduramitiyo eryali ligenda okuyita ku lubalama lw'Asiya. Ne tuseeyeeya nga tuli ne Arisitaruuko Omumakedooniya ow'e Tessalonika. Olunaku olwaddirira ne tugoba e Sidoni. Yuliyo n'ayisa bulungi Pawulo, n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira. Bwe twavaayo ne tuyita ku mabbali ga Kipuro olw'okwebalama omuyaga ogwali gutuva mu maaso. Ne tusala ennyanja ey'e Kilikiya ne Panfiliya, ne tugoba e Miira eky'omu Lukiya. Eyo omukulu w'ekibinja ky'abaserikale gye yasanga eryato ery'e Alekisanderiya nga liraga mu Yitaliya, n'atusaabaza omwo. Ne tumala ennaku nnyingi nga tugenda tuseeyeeya mpola, okutuusa lwe twatuuka okumpi ne Kuniido nga tuyise mu buzibu. Omuyaga bwe gwatuziyiza okutuukayo, ne tuyita ku mabbali ga Kureete, mu maaso ga Salumooni. Ne tuyitira ddala kumpi nakyo nga tutegana, okutuusa lwe twatuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi, ekiri okumpi n'ekibuga Lasaya. Ennaku nnyingi bwe zaayitawo nga n'olugendo lw'ennyanja lufuuse lwa kabi, kubanga n'ennaku ez'okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula ng'agamba nti: “Bassebo, ndaba nti olugendo luno lujja kuba lwa kabi era lujja kuba lwa kufiirwa, si bintu byokka na lyato, wabula n'obulamu bw'abantu.” Kyokka omukulu w'abaserikale n'akkiriza omugoba ne nnannyini lyato bye baateesa, okusinga ebyo Pawulo bye yayogera. Ate omwalo nga bwe gutaali mulungi kwewogomamu obudde obw'obutiti, ne basiima beeyongereyo, oba kisoboka batuuke e Foyiniiki, omwalo gw'e Kureete ogutunuulira wakati w'ebukiikakkono n'ebuvanjuba, ne wakati w'ebukiikaddyo n'ebuvanjuba. Empewo eziva mu bukiikaddyo bwe zaatandika okukunta, ne balowooza nti bafunye kye babadde beetaaga, ne basimbula eryato, ne baseeyeeya nga bagenda bayita kumpi ddala n'olubalama lwa Kureete. Kyokka waayitawo ebbanga ttono, omuyaga ogw'amaanyi oguva mu bukiikakkono ne gukunta nga guva ku kizinga. Eryato ne liremwa okugenda mu maaso gye guva. Bwe lyalemwa, ne tulireka ne litwalibwa omuyaga. Ne tutwalibwa ku mabbali g'ekizinga ekiyitibwa Kawuda, ne tuwonya akaato akaali kasibiddwa ku lyato, naye nga tumaze kutegana nnyo. Bwe baamala okukalinnyisa, ne bakwata emiguwa ne bagyetoolooza eryato, ne balisiba. Bwe baatya okulemera mu musenyu ogw'e Suriti ne bassa amatanga, ne baleka eryato litwalibwe omuyaga. Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olwaddirira ne batandika okusuula ebintu ebimu mu nnyanja. Ate ku lwaddako ne basuula n'emikono gyabwe ebimu ku bye bavugisa eryato. Bwe waayitawo ennaku nnyingi ng'enjuba wadde emmunyeenye tebirabikako era nga n'omuyaga gwe tulimu muyitirivu, essuubi lyonna ery'okuwona ne lituggwaamu. Bwe baamala ebbanga eddene nga tebalya, Pawulo n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti: “Bassebo, singa mwampuliriza ne mutava Kureete, okwonoonekerwa kuno n'okufiirwa tekwandibaddewo. Kaakano mbasaba mugume omwoyo, kubanga tewali n'omu mu mmwe anaafa, wabula eryato lye lijja okuzikirira, kubanga ekiro ekyayise malayika wa Katonda wange gwe mpeereza yayimiridde we ndi n'aŋŋamba nti: ‘Pawulo, totya, oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaari. Era ku lulwo Katonda ajja kukuuma n'abo bonna abali naawe mu lyato.’ Kale bannange mugume emyoyo kubanga neesiga Katonda nga kinaaba bwe kityo nga bw'akiŋŋambye. Wabula tujja kusuulibwa ku kizinga.” Nga mu ttumbi mu kiro eky'ekkumi n'ebina bwe twali nga tusuukundibwa omuyaga mu nnyanja Adiriya, abavuga eryato ne bateebereza nti tunaatera okusemberera olukalu. Bwe baasuula ekipima, ne balaba ng'obuwanvu bw'amazzi buli mita amakumi ana. Ate bwe tweyongerayo mu maaso, ne bapima, ne balaba nga ziri mita amakumi asatu. Bwe baatya okutomera olwazi, ne bassa ennanga nnya ku luuyi olw'ekitundu eky'emabega, ne balindirira obudde bukye. Abavuga eryato bwe baali bagezaako okudduka bave mu lyato, nga bamaze okussa akaato mu nnyanja nga beefuula ng'abagenda okusuula ennanga ku luuyi olw'ekitundu eky'omu maaso, Pawulo n'agamba abaserikale n'omukulu waabwe nti: “Abantu abo bwe bataasigale mu lyato, mmwe temuli ba kuwona.” Awo abaserikale ne basala emiguwa gy'akaato, ne bakaleka ne kagenda. Bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna balye ku mmere, ng'agamba nti: “Luno olunaku lwa kkumi na nnya nga mweraliikirira ne mutalya kantu. Mbeegayirira mulye, muleme okufa enjala. Era tewali kabi kanaabatuukako.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'atoola omugaati ne yeebaza Katonda nga bonna balaba, n'agumenyaamenyamu, n'atandika okulya. Olwo bonna ne baguma omwoyo, nabo ne balya emmere. Ffenna abaali mu lyato, twali abantu ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. Bwe baamala okukkuta emmere, ne bateewuluza ku lyato nga basuula eŋŋaano mu nnyanja. Obudde bwe bwakya enkya, ne batamanya nsi gye batuuseeko, naye ne balaba ekikono ky'ennyanja awali omwalo oguliko omusenyu, ne bateesa bagobye okwo eryato singa kisoboka. Ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, era mu kiseera ekyo, ne basumulula emiguwa gy'enkasi. Era ne bawanika ettanga ery'omu maaso, empewo eryoke eseeyeeyese eryato, ne boolekera olukalu. Kyokka bwe baatuuka mu kifo engezi we zisisinkanira, eryato ne litubira mu musenyu. Ekitundu eky'omu maaso ne kiyingira muli ne kinywera, ne kitasobola kunyeenya. Ekitundu eky'emabega ne kitandika okwabika olw'amaanyi g'amayengo. Abaserikale ne bateesa okutta abasibe, sikulwa ng'abamu bawuga ne babomba. Kyokka omukulu w'abaserikale n'abaziyiza olw'okwagala okuwonya Pawulo. Awo n'alagira abasobola okuwuga be baba basooka okwesuula mu mazzi bawuge batuuke ku lukalu, abalala bagoberere nga batwalirwa ku mbaawo ne ku bitundutundu by'eryato. Bwe batyo bonna ne batuuka ku lukalu nga balamu. Bwe twamala okuwona, ne tutegeera ng'ekizinga ekyo kiyitibwa Malita. Bannansi baakwo baatukwatirwa ekisa ekitali kya bulijjo, kubanga enkuba yali etandise okutonnya, nga n'obudde bwa butiti, ne batukumira omuliro, ne batwaniriza ffenna. Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku n'agussa mu muliro, omusota ogw'obusagwa ne guvaamu olw'ebbugumu, ne gumwerippa ku mukono. Bannansi bwe baalaba ng'omusota guleebeetera ku mukono gwe, ne bagambagana nti: “Mazima omuntu ono mutemu. Newaakubadde awonye ennyanja, omuwoolezi w'eggwanga tamuganya kubeera mulamu.” Kyokka Pawulo, omusota n'agukunkumulira mu muliro, n'atabaako kabi. Bannansi ne balinda, nga balowooza nti anaazimba oba nti ajja kugwa awo afiirewo. Bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira, ne batalaba kabi kamubaddeko, ne beefukulula, ne bagamba nti: “Ono lubaale.” Okumpi n'ekifo ekyo, waaliwo ebyalo by'omusajja omwami w'ekizinga ekyo, erinnya lye Pubuliyo, eyatwaniriza n'atukyaza ewuwe okumala ennaku ssatu. Awo olwatuuka, kitaawe n'akwatibwa omusujja n'ekiddukano eky'omusaayi. Pawulo n'ayingira gy'ali n'amusabira. Bwe yamussaako emikono, n'amuwonya. Ekyo bwe kyakolebwa, abantu abalala abaali ku kizinga ekyo nga balwadde, nabo ne bajja ne bawonyezebwa. Ne batuwa ekitiibwa kinene. Bwe twatuusa okusaabala okuvaayo ne batuleetera byonna bye twali twetaaga mu lugendo. Bwe waayitawo emyezi esatu, ne tusaabala mu lyato ery'e Alekisanderiya, eryali limaze ebiseera eby'obutiti ku kizinga ekyo. Eryato eryo lyaliko ekifaananyi ky'Abalongo. Ne tugoba ku Sirakuusa, ne tumalayo ennaku ssatu. Bwe twavaayo, ne tugenda nga tubalama, ne tutuuka e Reegiyo. Bwe twamalayo olunaku lumu, empewo ey'ebukiikakkono n'ejja. Ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Putewoli. Eyo twasangayo abooluganda, ne batuyita ne tumala nabo ennaku musanvu. Oluvannyuma ne tugenda e Rooma. Abooluganda ab'omu Rooma bwe baawulira, ne bajja ku katale ka Apiyo ne ku Bisulo Ebisatu okutusisinkana. Pawulo bwe yabalaba, ne yeebaza Katonda, era n'aguma omwoyo. Bwe twatuuka mu Rooma, Pawulo n'akkirizibwa okubeera yekka, ng'alina omuserikale amukuuma. Bwe waayitawo ennaku ssatu, Pawulo n'ayita abakulu b'Abayudaaya abaali mu Rooma bakuŋŋaane. Bwe baakuŋŋaana, n'abagamba nti. “Abooluganda, newaakubadde nga sirina kibi kye nakola ggwanga lyaffe, wadde okusobya empisa ze twafuna okuva ku bajjajjaffe, nasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abarooma mu Yerusaalemu. Bwe bampozesa, ne baagala okunta, kubanga baazuula nga sikolanga kintu na kimu ekinsaanyiza okuttibwa. Kyokka Abayudaaya bwe baakiwakanya, ne mpalirizibwa okujulira eri Kayisaari, newaakubadde nga saalina kye nvunaana ggwanga lyange. Kale olw'ensonga eyo, mbayise mbalabe era njogereko nammwe, kubanga nsibiddwa mu njegere zino, olw'oyo abantu ba Yisirayeli gwe basuubira.” Bo ne bamugamba nti: “Tetufunanga bbaluwa n'emu kuva Buyudaaya ekwogerako, wadde omu ku booluganda okujja okutubuulira, oba okwogera ekibi ku ggwe. Naye twandyagadde okumanya ggwe by'olowooza, kubanga tumanyi nti buli wantu ekibiina ekyo bakiwakanya.” Ne bamulagaanya olunaku olulala, era ku olwo ne bajja bangi mu nnyumba mwe yasulanga. N'abannyonnyola ng'abategeeza eby'Obwakabaka bwa Katonda, era n'anyiikira okubakkirizisa Yesu ng'ajuliza eby'omu Mateeka agaaweebwa Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi. Ekyo yakikola okuva enkya okutuusa akawungeezi. Abamu ne bakkiriza olw'ebyo bye yayogera, kyokka abalala ne batakkiriza. Ne balemwa okukkiriziganya, ne baabuka nga Pawulo amaze okubagamba kino nti: “Mwoyo Mutuukirivu yali mutuufu bwe yagamba bajjajjammwe ng'ayita mu mulanzi Yisaaya eyagamba nti: ‘Genda eri abantu abo obagambe nti: Weewaawo muliwulira, naye temulitegeera. Weewaawo mulitunula, naye temulyetegereza. Omutima gw'abantu bano gugubye, n'amatu gaabwe gazibikidde, n'amaaso gaabwe bagazibirizza, sikulwa nga balaba n'amaaso, nga bawulira n'amatu, nga bategeera n'omutima, ne bakyuka, ne mbawonya.’ “Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezeddwa eri ab'amawanga amalala. Bo baliwuliriza.” [ Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.] Pawulo n'amala emyaka ebiri miramba ng'ali mu nnyumba gye yapangisa, n'ayanirizanga bonna abajjanga gy'ali. N'abategeezanga eby'Obwakabaka bwa Katonda, era n'abayigirizanga ebifa ku Mukama waffe Yesu Kristo, ng'ayogera n'obuvumu era nga tewali amuziyiza. Nze Pawulo omuweereza wa Kristo Yesu, nayitibwa okuba omutume, ne nnondebwa okubunyisa Amawulire Amalungi agava eri Katonda. Amawulire Amalungi ago Katonda ge yasuubiriza edda mu byawandiikibwa, ng'ayita mu balanzi be, agafa ku Mwana we. Ng'omuntu, Omwana oyo yazaalibwa nga muzzukulu wa Dawudi. Kyokka olw'obuyinza bwe, obusibuka mu butukuvu bwe yalina mu mwoyo, era n'olw'okuzuukira kwe, yakakasibwa nti Mwana wa Katonda. Ye Yesu Kristo Mukama waffe, eyatukwatirwa ekisa ne tuba abatume, tutuuse amawanga gonna ku buwulize obuva mu kumukkiriza. Nammwe muli mu abo, abaayitibwa okuba aba Yesu Kristo. Mmwe mwenna abaagalwa ba Katonda abali e Rooma, era abaayitibwa okuba abantu be, Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe. Okusooka, neebaza Katonda wange nga mpita mu Yesu Kristo, ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi yonna. Katonda gwe mpeereza n'omutima gwange gwonna, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Omwana we, ye alaba bwe mbajjukira bulijjo mu ssaala zange, nga mmwegayirira nti ye bw'asiima, ntambule bulungi, nsobole olumu okutuuka gye muli, kubanga neegomba okubalabako, mbasobozese okufuna ekirabo ekigasa omwoyo. Kwe kugamba: tusanyukire wamu olw'okukkiriza kwaffe, okwammwe n'okwange. Abooluganda, njagala mumanye nti emirundi mingi nayagala okujja gye muli, nkole omulimu ogw'omugaso ne mu mmwe, nga bwe ngukola mu b'amawanga amalala. Naye n'okutuusa kaakano nkyalemeseddwa. Nnina obuvunaanyizibwa okuyamba Abayonaani n'ab'amawanga agatannagunjuka, abayigirize n'abatali bayigirize. Nammwe abali e Rooma, kyenva njagala ennyo okubategeeza Amawulire Amalungi. Amawulire Amalungi tegankwasa nsonyi, kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola bonna abakkiriza, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala. Mu Mawulire Amalungi, obutuukirivu obuva eri Katonda mwe bulabikira. Obutuukirivu obwo Katonda abutuwa lwa kukkiriza, era bweyongerera mu kukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omutuukirivu anaabeeranga mulamu lwa kukkiriza.” Katonda ng'asinziira mu ggulu, alaga bw'asunguwalira abantu bonna abatamussaamu kitiibwa era ababi, abaziyiza amazima okumanyibwa olw'empisa zaabwe embi. Ebisoboka okumanyibwa ku Katonda, babiraba bulungi, kubanga Katonda yabibalaga. Okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo era n'obwakatonda bwe, birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda. N'olwekyo tebalina kyakwewolereza, kubanga newaakubadde nga Katonda baamumanya, kyokka tebaamussaamu kitiibwa nga Katonda, wadde okumwebaza, wabula ebirowoozo byabwe byadda mu bitagasa, emitima gyabwe emisirusiru ne gijjuzibwa ekizikiza. Mu kweyita abagezi, baafuuka basiru. Ekitiibwa kye bandiwadde Katonda ataggwaawo, ne bakiwa ebifaananyi by'abantu obuntu, n'eby'ebinyonyi, n'eby'ensolo, n'eby'ebyewalula. Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby'ensonyi, ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. Baagaana amazima agafa ku Katonda, ne bakkiriza eby'obulimba, ne basinzanga, era ne baweerezanga ebitonde, mu kifo ky'Omutonzi atenderezebwa emirembe n'emirembe. Amiina. Katonda kyeyava abaleka ne bafugibwa okwegomba kwabwe okubi: abakazi baabwe ne bagaana ebyo emibiri gyabwe bye gyatonderwa, ne bagikozesanga ebyo bye gitaatonderwa. N'abasajja ne bakolanga bwe batyo: ne balekayo okumanyanga abakazi, ne babugujjanga okwegomba basajja bannaabwe, era ne bakolanga nabo eby'ensonyi, bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe. Era nga bwe baagaana okumanya Katonda, ne Katonda kyeyava abaleka ne bagwagwawala emitima, ne bakolanga ebitasaana. Bajjudde ebyonoono ebya buli ngeri, obubi, omululu, n'ettima. Bajjudde obuggya, obussi bw'abantu, obuyombi, n'okulowooza obubi ku balala. Bageya, basalaganako ebigambo, bakyawa Katonda, bavuma bannaabwe, beekulumbaza, beewaanawaana, era banoonyereza amakubo ag'okukola ebibi. Tebawulira bazadde baabwe. Basirusiru tebalina mazima, tebaagalana era tebalina kusaasira. Newaakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango nti abakola ebyo basaanidde kufa, naye babikola. Ate tebakoma ku kubikola kwokka, naye basiima n'abo ababikola. Kale munnange ggwe asalira abalala omusango, ne bw'obeera ani, tolina kyakwewolereza. Mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga, kubanga bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala. Tumanyi ng'abakola ebyo, Katonda abasalira omusango okubasinga, nga tasaliriza. Kale ggwe munnange, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, ate nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala? Oba, ekisa kya Katonda ekingi n'obukwatampola, n'okugumiikiriza kwe, by'ogaya? Tomanyi nga Katonda akukwatirwa ekisa olyoke weenenye? Naye olw'obukakanyavu bw'omutima gwo ogutayagala kwenenya, weeterekedde okusalirwa omusango n'obukambwe, ku lunaku Katonda lw'aliragirako obusungu bwe ng'asala omusango awatali kusaliriza. Aliwa abantu bonna empeera, ng'asinziira ku bye baakola. Abo abanyiikira okukola ebirungi nga baluubirira okufuna ekitiibwa n'ettendo n'obutafa, alibawa obulamu obutaggwaawo. Naye abo ab'empaka era abatagoberera mazima, ne bagoberera ekitali kituufu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira. Abantu bonna abakola ebibi balibonyaabonyezebwa ne balumizibwa, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala. Naye bonna abakola obulungi, baliweebwa ekitiibwa n'ettendo n'emirembe, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala, kubanga Katonda tasosola mu bantu. Bonna aboonoona nga tebamanyi Mateeka, balizikirizibwa nga tebavunaanibwa Mateeka. Ate bonna aboonoona nga bamanyi Amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu Mateeka, kubanga abatuukirivu mu maaso ga Katonda, si be bo abawulira obuwulizi Amateeka, wabula abo abakola bye galagira. Ab'amawanga amalala abatalina Mateeka bwe bakolera ku kutegeera kwabwe, ne batuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, be baba bafuuse amateeka agabafuga, newaakubadde nga tebalina Mateeka gali, kubanga balaga nti Amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe. Kino n'eddoboozi ly'omutima gwabwe likikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza. Era okusinziira ku Mawulire Amalungi, ge ntegeeza abantu, ku bwa Yesu Kristo bwe kityo bwe kiriba, ku lunaku Katonda lw'alisalirako abantu omusango olw'ebyo bye baakisa. Naye ggwe eyeeyita Omuyudaaya, weesigama ku Mateeka, ne weenyumiririza mu Katonda. Omanyi Katonda by'ayagala okole, era wayigirizibwa mu Mateeka okulondawo ekisinga obulungi. Okakasa nti oli mukulembeze wa bazibe b'amaaso, era amulisa abali mu kizikiza; aluŋŋamya abatalina magezi, era omuyigiriza w'abaana abato, kubanga mu Mateeka, mw'oggya byonna eby'amagezi n'eby'amazima. Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki ggwe teweeyigiriza? Ggwe ategeeza abantu obutabbanga, ate ggwe obba? Ogamba abalala nti temwendanga, ate ggwe n'oyenda? Okyawa ebitali Katonda, ate n'obba eby'omu masabo? Weenyumiririza mu mateeka ga Katonda, ate n'omuswaza ng'ogamenya? Kyawandiikibwa nti: “Mmwe muleetera erinnya lya Katonda okuvumibwa ab'amawanga amalala.” Okukomolebwa kugasa bw'okwata Amateeka, naye bw'ojeemera Amateeka, oba ng'atali mukomole. Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu Mateeka, talibalibwa ng'eyakomolebwa? Oyo ataakomolebwa mu mubiri, kyokka n'atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, talikusalira omusango okukusinga ggwe omumenyi w'Amateeka, newaakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu Mateeka, era nga wakomolebwa? Omuyudaaya ddala, si y'oyo alabikira ku byokungulu. Era okukomolebwa okw'amazima, si kwe kwo okwokungulu ku mubiri. Naye Omuyudaaya ddala ye Muyudaaya munda, eyafuna okukomolebwa okw'amazima, okutali kwa kungulu ku mubiri, wabula okw'omu mutima. Omuntu ng'oyo tatendebwa bantu, wabula Katonda. Kale Omuyudaaya kiki ky'asinza abalala? Oba okukomolebwa kugasa ki? Kugasa mu ngeri yonna. Okusookera ddala, Abayudaaya be baakwasibwa ekigambo kya Katonda. Kale kiba kitya abamu ku bo bwe bataba beesigwa? Obuteesigwa bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda? Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Oba mutuufu mu bigambo byo. Bw'osalirwa omusango ggwe osinga.” Naye oba nga ffe okuba ababi kiragira ddala nga Katonda bw'asala omusango mu bwenkanya, tunaagamba tutya? Tugambe nti Katonda bw'atubonereza aba mubi? Njogera ng'abantu bwe boogera. Nedda, tekisoboka. Katonda bw'ataba mwenkanya, ate olwo ayinza atya okulamula ensi? Naye obulimba bwange bwe bwongera okulaga nga Katonda bw'ali ow'amazima, n'aweebwa ekitiibwa, nze ate lwaki mba nkyasalirwa omusango okunsinga ng'omwonoonyi? Era lwaki tetugamba–nga bwe batuwaayiriza era ng'ambamu bwe batulumiriza nti bwe tugamba–nti tukle ebibi mulyoke muveemu ebirungi? – ng'abamu bwe batuwaayiriza nti bwe tugamba. Abo basaanidde okusalirwa omusango okubasinga. Kale olwo ffe Abayudaaya tulina kye tusinza abalala? Nedda, tetukirina, nga bwe nasoose okulaga nti abantu bonna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, bafugibwa kibi, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Tewali mutuukirivu wadde omu. Tewali ategeera, wadde anoonya Katonda. Bonna baawaba, bonna awamu baakola ebitasaana. Tewali akola kirungi, wadde omu bw'ati. Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde. Ennimi zaabwe bazoogeza bya bukuusa. Bye boogera bya kabi ng'obusagwa bw'enswera. Akamwa kaabwe kajjudde ebikolimo n'ebigambo eby'obukambwe. Banguwa okugenda okutta abantu. Buli gye bayita baleetera abantu okuzikirira era n'okunakuwala. Tebamanyi kuleetera bantu mirembe. Era tebafa ku kussaamu Katonda kitiibwa.” Tumanyi nti byonna ebiri mu Mateeka bikwata ku abo abafugibwa Amateeka ago, waleme kubaawo yeewolereza, wabula ab'oku nsi bonna Katonda abasalire omusango. Mu maaso ge, tewali muntu n'omu alibalwa okuba omutuukirivu olw'okutuukiriza ebiri mu Mateeka. Amateeka kye gakola, kwe kumanyisa omuntu nti akoze kibi. Naye kaakano obutuukirivu obuva eri Katonda nga tebuyita mu Mateeka, bulabise, era bukakasibwa Amateeka n'abalanzi, bwe butuukirivu Katonda bw'awa abantu bonna abakkiriza Yesu Kristo, kubanga bonna tewali njawulo. Bonna baayonoona, ne balemwa okutuuka ku kitiibwa Katonda kye yayagala babeere nakyo. Katonda olw'ekisa kye, yabawa obutuukirivu bwa buwa, kubanga baanunulibwa Yesu Kristo. Yesu oyo mu kufa kwe, yateekebwawo okuba omutango gw'ebibi by'abamukkiriza. Bw'atyo Katonda n'alaga nga bw'ali omutuukirivu, kubanga mu kugumiikiriza kwe, ebibi ebyakolebwa edda yabiyisaako amaaso, alyoke akakase mu kiseera kino, nga bw'ali omutuukirivu, era nga bw'awa obutuukirivu buli muntu akkiriza Yesu. Kale ekitwenyumirizisa kiki? Tekiriiwo. Lwaki tekiriiwo? Olw'ebyo bye tukola? Nedda, naye lwa kukkiriza. Tukakasiza ddala nti omuntu aba mutuukirivu lwa kukkiriza, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira. Kazzi Katonda wa Bayudaaya bokka? Ab'amawanga amalala bo si waabwe? Ddala nabo waabwe, kubanga Katonda ali omu, era abakomole alibawa obutuukirivu ng'asinziira ku kukkiriza kwabwe, n'abatali bakomole alibubawa olw'okukkiriza kwabwe. N'olwekyo Amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza okwo? Nedda, tekisoboka, naye tuganyweza bunyweza. Kale tunaagamba ki ku jjajjaffe Aburahamu? Singa Aburahamu yali mutuukirivu olw'ebyo bye yakola, yandibadde n'ekimwenyumirizisa, wabula takirina mu maaso ga Katonda. Kale ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.” Omuntu akola omulimu, empeera ye tebalibwa ng'emuweebwa obuweebwa ng'ekirabo, obulabo, wabula aba ateekwa okugiweebwa. Kyokka atakoze mulimu, wabula n'akkiriza bukkiriza Katonda atukuza aboonoonyi n'abafuula abatuukirivu, okukkiriza kwe Katonda kw'asinziirako okumufuula omutuukirivu. Era kino Dawudi kye yategeeza bwe yayogera ku mukisa gw'omuntu, Katonda gw'abala okuba omutuukirivu awatali by'akoze. Agamba nti: “Ba mukisa abasonyiyibwa ebyonoono byabwe, ne baggyibwako ebibi byabwe. Omuntu oyo wa mukisa Mukama gw'abala nti talina kibi.” Kale omukisa ogwo gwa bakomole bokka, oba n'abatali bakomole nabo gwabwe? Tugamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.” Kino kyabaawo ddi? Ng'amaze okukomolebwa, oba nga tannakomolebwa? Tekyabaawo ng'amaze okukomolebwa, wabula nga tannaba kukomolebwa. Yakomolebwa luvannyuma, okukomolebwa kwe ne kuba akabonero akakasa obutuukirivu bwe yaweebwa olw'okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa. Bw'atyo n'aba jjajja wa bonna abakkiriza nga si bakomole, ne babalibwa okuba abatuukirivu. Era ye jjajja w'abakomole, sso si ow'abo abakoma ku kukomolebwa obukomolebwa, naye ow'abo abagoberera obulamu obw'okukkiriza, jjajjaffe Aburahamu bwe yalina nga tannakomolebwa. Aburahamu n'ezzadde lye baasuubizibwa okuweebwa ensi, si lwa kutuukiriza ebiri mu Mateeka g'Ekiyudaaya, wabula lwa butuukirivu obuva mu kukkiriza. Singa abo abanywerera ku Mateeka g'Ekiyudaaya be baweebwa ebyo Katonda bye yasuubiza, okukkiriza kwandibadde kwa bwereere, n'ebyo Katonda bye yasuubiza tebyandibaddewo, kubanga Amateeka gatuleetera okusunguwalirwa Katonda. Naye awatali Mateeka, tewaba kwonoona. Kale ebyo Katonda bye yasuubiza byesigamye ku kukkiriza, biryoke birabikire ddala nti byava mu kisa kya Katonda okuweebwa ezzadde lya Aburahamu lyonna, sso si abo bokka abanywerera ku Mateeka, naye n'abo abalina okukkiriza nga Aburahamu kwe yalina, kubanga Aburahamu ye jjajjaffe ffenna; nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkutaddewo obeere jjajja w'amawanga amangi.” Ekyo kyamusuubizibwa Katonda gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alagira ebitaliiwo ne bibaawo. Aburahamu yakkiriza n'asuubira, mu kifo ky'okuggwaamu essuubi. Kyeyava aba jjajja w'amawanga amangi, nga bwe yasuubizibwa nti: “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.” Teyaddirira mu kukkiriza, newaakubadde nga yali awezezza emyaka nga kikumi egy'obukulu, era ng'alaba nti omubiri gwe guli ng'ogufudde, nga ne Saara mugumba. Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza. Yeeyongera okufuna amaanyi mu kukkiriza kwe, n'agulumiza Katonda, kubanga yakakasiza ddala nti Katonda asobola okukola kye yasuubiza. Olw'okukkiriza kwe, kyeyava abalibwa okuba omutuukirivu. Kyokka ebigambo ebigamba nti: “Yabalibwa okuba omutuukirivu”, tebyawandiikibwa ku lulwe yekka, wabula era ne ku lwaffe. Naffe abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe, tulibalibwa okuba abatuukirivu. Yesu oyo yattibwa olw'ebibi byaffe, n'azuukira tulyoke tuggyibweko omusango. Kale nga bwe tubaliddwa okuba abatuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe mu maaso ga Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. Mu ye mwe twayita okutuuka ku kisa kya Katonda kye tulimu, era tusanyuka olw'okusuubira okugabana ku kitiibwa kya Katonda. Si ekyo kyokka, naye twongerako n'okusanyuka mu kubonaabona kwaffe nga tumanyi nti okubonaabona kuvaamu okugumiikiriza, okugumiikiriza ne kuvaamu okusiimibwa Katonda, n'okusiimibwa Katonda ne kuvaamu okusuubira. Ate okusuubira okwo tekutuswaza, kubanga okwagala kwa Katonda kwabunduggulwa mu mitima gyaffe ku bwa Mwoyo Mutuukirivu gwe twaweebwa. Bwe twali nga tetweyinza, Kristo yafiirira aboonoonyi, mu kiseera Katonda kye yateesa. Kiba kizibu omuntu okufiirira oyo akola ebituufu. Kale akolera abalala eby'ekisa mpozzi wandibaawo eyeewaayo okumufiirira. Naye Katonda alagira ddala nga bw'atwagala, kubanga Kristo yatufiirira bwe twali nga tukyali boonoonyi. Kaakano nga bwe tubalibwa okuba abatuukirivu olw'okufa kwe, tugenda kusingawo nnyo okulokolebwa ku bubwe, tuwone obusungu bwa Katonda. Kuba oba nga bwe twali nga tukyali balabe ba Katonda, twatabaganyizibwa naye olw'okufa kw'Omwana we, kaakano nga bwe tutabaganye naye, obulamu bw'Omwana we bujja kusingawo okutulokola. Era si ekyo kyokka, wabula twongerako n'okusanyukira mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atutuusizza kaakano ku kutabagana okwo. Ng'ekibi bwe kyajja mu nsi olw'omuntu omu ne kireeta okufa, n'okufa bwe kutyo bwe kwabuna mu bantu bonna, kubanga bonna baayonoona. Ddala ekibi kyaliwo mu nsi ng'Amateeka tegannateekebwawo. Era awatali tteeka, tewali avunaanibwa kibi. Naye okufa kwafuga abantu okuviira ddala ku Adamu, okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n'abo abataayonoona mu ngeri ya Adamu, eyajeemera ekiragiro kya Katonda. Adamu yali afaananako n'oyo eyali alindirirwa okujja. Kyokka bombi si be bamu, kubanga ekirabo kya Katonda kisukkiridde nnyo okwonoona kw'omuntu. Kuba oba ng'okwonoona kw'omuntu omu kwaleetera abangi okufa, ekisa kya Katonda n'ekirabo kye, kye yaweera mu muntu omu Yesu Kristo, kyasinzaawo nnyo okubuna abangi. Era ekirabo kya Katonda tekiri ng'okufa okwava mu kwonoona kw'omuntu omu oli. Ekibi kye ekimu, kyaleetera abantu okusingibwa omusango. Naye ebibi bingi bwe byakolebwa abantu, ne wabaawo ekirabo kye batasaanidde, eky'okubaggyisaako omusango. Oba ng'omuntu omu bwe yayonoona, okufa kwafuga olw'omuntu oyo omu, abo Katonda be yakwatirwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obutuukirivu, balisingawo nnyo okufugira mu bulamu, olw'omuntu omu Yesu Kristo. Era ng'okwonoona kw'omuntu omu bwe kwaleetera abantu bonna okusingibwa omusango, bwe kityo n'ekikolwa eky'obutuukirivu ekyakolebwa omuntu omu, kyaleetera abantu bonna okuggyibwako omusango n'okuweebwa obulamu. N'olwekyo, ng'obujeemu bw'omuntu omu bwe bwaleetera abangi okuba aboonoonyi, bwe butyo n'obuwulize bw'omuntu omu, bulireetera bangi okuba abatuukirivu. Amateeka gajja, okwonoona kulyoke kweyongere. Naye okwonoona gye kwakoma okweyongera, n'ekisa kya Katonda gye kyakoma okweyongera ennyo okusingawo. Era ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, n'ekisa kya Katonda bwe kityo bwe kifugira mu butuukirivu, ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale tunaagamba tutya? Tubeere mu kibi, ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? Nedda, tekisoboka. Ffe abaafa ne twawukanira ddala n'obulamu obw'ekibi, tuyinza tutya okubuddamu? Temumanyi nti ffe abaabatizibwa ne twegatta wamu ne Kristo Yesu, twabatizibwa ne twegatta wamu naye mu kufa kwe? Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, ne tugabana ku kufa kwe, bwe tutyo nga Kristo bwe yazuukizibwa obuyinza bwa Kitaawe obwekitiibwa, naffe tubenga mu bulamu obuggya. Kale oba nga twegatta wamu naye mu kufa kwe, era bwe tutyo tulyegatta wamu naye ne mu kuzuukira kwe. Tumanyi nti embeera yaffe ey'edda yakomererwa ku musaalaba wamu ne Kristo omubiri ogukola ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okuddamu okuba abaddu b'ekibi. Omuntu afudde, aba takyafugibwa kibi. Naffe, oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nti tuliba balamu wamu naye. Tumanyi nti nga Kristo bwe yazuukira, takyaddamu kufa, okufa tekukyamufuga. Okufa kwe yafa olw'ekibi, yafa omulundi gumu, kyokka kaakano mulamu, nga mulamu eri Katonda. Bwe mutyo nammwe musaanye okwebala nti mufudde ne mwawukana n'ekibi, ne muba balamu eri Katonda, nga muli wamu ne Kristo Yesu. N'olwekyo temukkirizanga ekibi okuddamu okufuga mu mibiri gyammwe egifa, ne mugondera okwegomba kwagyo okubi. Era temuwangayo bitundu bya mibiri gyammwe eri ekibi, okubikozesa mu kwonoona, naye mweweeyo eri Katonda, ng'abantu abavudde mu kufa ne balamuka. Era mweweereyo ddala gy'ali, abakozesenga eby'obutuukirivu. Ekibi tekikyabafuga, kubanga Amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa kya Katonda. Kale tukole ki? Tukole ekibi, kubanga Amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa kya Katonda? Nedda, tekisoboka. Temumanyi nti ekyo kye mwewa ne mukiwulira ng'abaddu, oba kibi ekireeta okufa, oba obuwulize obuleeta obutuukirivu, muba baddu baakyo? Kyokka Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abaali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa. Kale bwe mwaggyibwa mu kibi, mwafuuka baddu ba Katonda, abagoberera obutuukirivu. Njogera ng'abantu obuntu bwe boogera, olw'obunafu bw'engeri mmwe ng'abantu gye mutegeeramu ebintu. Nga bwe mweweerangayo ddala mu bugwagwa ne mu kwonoona, ne mukola ebibi, bwe mutyo ne kaakano mweweereyo ddala mu butuukirivu, mulyoke mutukuzibwe. Bwe mwali nga mukyali baddu ba kibi, eby'obutuukirivu byali tebibafuga. Kale kalungi ki ke mwaggya mu kukola ebyo ebibakwasa ensonyi kaakano? Ebyo bireeta kufa. Naye kaakano nga bwe mwaggyibwa mu kibi ne mufuuka abaddu ba Katonda, kye mufunyeemu kwe kutukuzibwa okubaleetera obulamu obutaggwaawo. Empeera y'ekibi kufa, naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo, bwe tufuna mu Kristo Yesu Mukama waffe. Abooluganda, (njogera n'abo abategeera amateeka), temumanyi nti amateeka omuntu gamufuga ng'akyali mulamu? Ekyokulabirako: omukazi omufumbo etteeka limulagira okubeera ne bba, nga bba oyo akyali mulamu. Bba bw'afa, omukazi oyo aba takyafugibwa tteeka eryo. N'olwekyo omukazi bw'aba n'omusajja omulala, ng'ate bba akyali mulamu, ayitibwa mwenzi. Kyokka bba bw'afa, aba takyasibibwa tteeka eryo. Era bw'afumbirwa omusajja omulala, olwo taba mwenzi. Nammwe bwe mutyo bwe muli, baganda bange. Mwafa ne mwawukanira ddala n'Amateeka, kubanga muli bitundu bya mubiri gwa Kristo. Era kaakano muli ba Kristo oyo eyazuukira tulyoke tube n'obulamu obugasa mu kuweereza Katonda. Bwe twali nga tukyafugibwa omubiri, Amateeka gaayongera amaanyi mu kwegomba kwaffe okubi, ne kukola mu mibiri gyaffe, okufa ne kweyongera. Naye kaakano tetukyafugibwa Mateeka, kubanga twafa ne twawukana n'Amateeka agaatufuula abasibe. N'olwekyo Katonda tumuweereza mu ngeri empya eya Mwoyo Mutuukirivu, sso si mu ngeri enkadde ey'okugoberera Amateeka amawandiike. Kale tugambe tutya? Tugambe nti Amateeka kye kibi? Nedda, si bwe kiri. Naye sandimanye kibi, singa tewali Mateeka. Sandimanye kiyitibwa kwegomba kubi, singa Amateeka tegagamba nti: “Teweegombanga.” Naye ekibi bwe kyayita mu kiragiro, ne kindeetera okwegomba okubi okwa buli ngeri. Awatali mateeka, ekibi kiba kifudde. Nze nali mulamu nga tewali mateeka. Naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kiramuka, ne kindeetera okufa. Olwo ekiragiro ekyali eky'okundeetera obulamu, ne kinviiramu okufa. Ekibi bwe kyayita mu kiragiro, ne kinnimbalimba, ne kinzita nga kisinziira mu kiragiro. N'olwekyo Amateeka ku bwago matukuvu, n'ebiragiro bitukuvu, bituufu era birungi. Kale olwo ekirungi kye kyandeetera okufa? Nedda, si bwe kiri. Naye ekibi kye kyandeetera okufa nga kiyita mu kirungi, ekibi kiryoke kyeyoleke nga bwe kiri ekibi, era olw'ekiragiro, ekibi ekyo kiryoke kyeyongere okulagira ddala obubi bwakyo. Tumanyi nti Amateeka galiwo lwa bya mwoyo, naye nze nfugibwa mubiri, ndi muddu wa kibi. Kye nkola sikitegeera, kubanga kye njagala si kye nkola, wabula kye nkyawa ate kye nkola. Bwe nkola kye ssaagala kukola ekyo kiraga nti nzikiriza nti Amateeka malungi. Kubanga si nze nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze kye kikikola. Mmanyi nti mu nze, ng'omuntu obuntu, temuli kalungi n'akamu, kubanga newaakubadde nga njagala okukola ekirungi, naye nnemwa okukikola. Ekirungi kye njagala si kye nkola, wabula ekibi kye ssaagala kye nkola. Kale oba nga nkola ekyo kye ssaagala, kwe kugamba nti si nze nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze kye kikikola. Kale kino kye ndaba mu nze: bwe njagala okukola ekirungi, ate nnondawo kukola kibi. Mu mwoyo gwange nsanyukira etteeka lya Katonda. Naye mu mubiri gwange nsangamu ekirala ekirwanyisa etteeka eryo, amagezi gange lye gasemba, ne kinfuula omuddu w'etteeka ly'ekibi ekiri mu mubiri gwange. Nze nga ndi muntu munaku! Ani alimponya omubiri guno oguntwala mu kufa? Katonda yeebazibwe ankolera ekyo ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe ntyo bwe ndi: mu kutegeera kwange, nze ngoberera mateeka ga Katonda, naye mu kwegomba kwange, ngoberera tteeka lya kibi. Kale kaakano abo abali mu Kristo Yesu tebakyalina musango, kubanga etteeka lya Mwoyo, erituwa obulamu ffe abali mu Kristo, lyamponya etteeka erireeta ekibi era n'okufa. Amateeka kye gataasobola kukola olw'okulemesebwa obunafu bw'omubiri, Katonda yakikola. Yasalira ekibi ekiri mu mubiri omusango okukisinga, bwe yatuma Omwana we yennyini, ng'alina omubiri ogufaananira ddala omubiri ogukola ekibi, alyoke awangule ekibi. Ekyo Katonda yakikola, ffe abatafugibwa mubiri, wabula abafugibwa Mwoyo Mutuukirivu tulyoke tutuukirize eby'obutuukirivu, Amateeka bye gatulagira okukola. Kubanga abo abafugibwa omubiri, beemalira ku bya mubiri, naye abo abafugibwa Mwoyo Mutuukirivu, beemalira ku bya Mwoyo Mutuukirivu. Okwemalira ku by'omubiri kuleeta kufa, naye okwemalira ku bya Mwoyo Mutuukirivu kwe kuleeta obulamu n'emirembe. Okwemalira ku by'omubiri, kuleetera omuntu okuba omulabe wa Katonda, nga tawulira mateeka ga Katonda, era ddala tayinza kugawulira. Era abo abafugibwa omubiri, tebayinza kusanyusa Katonda. Naye mmwe oba nga ddala Mwoyo wa Katonda ali mu mmwe, temufugibwa mubiri, wabula mufugibwa mwoyo. Oyo atalina Mwoyo wa Kristo, si wa Kristo. Naye oba nga Kristo ali mu mmwe, emibiri gyammwe ne bwe gifa olw'ekibi, emyoyo gyammwe giba miramu olw'okutukuzibwa Katonda. Oba nga Mwoyo wa Katonda eyazuukiza Yesu, ali mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu, n'emibiri gyammwe egifa aligiwa obulamu ku bwa Mwoyo we ali mu mmwe. Kale nno abooluganda, tulina ebbanja. Naye omubiri si gwe gutubanja nti tugobererenga ebyo bye gwagala. Bwe munaagobereranga eby'omubiri, mugenda kufa. Naye Mwoyo bw'anaabayambanga ne mulekerayo ddala ebikolwa byammwe ebibi, muliba balamu. Bonna abaluŋŋamizibwa Mwoyo wa Katonda, be baana ba Katonda. Temwaweebwa mwoyo gwa buddu okudda mu kutya, naye mwaweebwa Mwoyo Mutuukirivu abafuula abaana ba Katonda, atusobozesa okuyita Katonda nti “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”. Mwoyo yennyini akakasiza wamu n'emyoyo gyaffe nti tuli baana ba Katonda. Nga bwe tuli abaana be, tulifuna ebyo bye yasuubiza abantu be, era tulifunira wamu ne Kristo ebyo Katonda bye yamuterekera. Bwe tubonaabonera awamu ne Kristo, era tuliweerwa wamu naye ekitiibwa. Ndaba ng'okubonaabona kwaffe okw'omu kiseera kino ekiriwo, tekuyinza kugeraageranyizibwa na kitiibwa ekiritulagibwa. Ebitonde byonna bitunula nkaliriza, nga birindirira okulagibwa kw'abaana ba Katonda. Ebitonde ebyo byafuuka ebitalina mugaso, si lwa kweyagalira, wabula ku bw'oyo eyayagala bibe bwe bityo. Naye waliwo essuubi nti ebitonde byennyini biriggyibwa mu buddu obubireetera okuvunda, ne bifuna eddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda. Tumanyi ng'okutuusa kaakano, ebitonde byonna bisinda era byonna birumwa ng'omukazi alumwa okuzaala. Naye si bitonde byokka, wabula naffe abaafuna Mwoyo Mutuukirivu ng'ekirabo kya Katonda ekisookera ddala, tusinda mu mitima gyaffe, nga tulindirira Katonda okutufuula abaana be, n'okununula emibiri gyaffe. Twalokolebwa lwa kusuubira. Naye singa kye tusuubira tuba tukirabako, okwo tekwandibadde kusuubira. Ani asuubira ekyo ky'alabako? Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tugumiikiriza ne tukirindirira. Ne Mwoyo bw'atyo atuyamba mu bunafu bwaffe, kubanga tetumanyi kusaba Katonda nga bwe kitugwanira. Naye Mwoyo yennyini atwegayiririra n'okusinda okutayogerekeka. Era Katonda akebera emitima gy'abantu, amanyi Mwoyo ky'alowooza, kubanga Mwoyo yeegayiririra abantu ba Katonda, nga Katonda bw'ayagala. Tumanyi nti abaagala Katonda era be yayita nga bwe yayagala, byonna ebibatuukako bibaviiramu ebirungi. Kubanga Katonda yamanya dda abantu be, nga tebannaba na kubaawo, era yabategeka bafaanane Omwana we, Omwana we oyo alyoke abe omubereberye mu booluganda abangi. Abo Katonda be yategeka, be bo be yayita. Era abo be yayita, be bo be yatukuza. Era abo be yatukuza, be bo be yawa ekitiibwa. Kale ebyo tunaabyogerako ki? Katonda bw'abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa? Oyo ataasaasira na Mwana we yennyini, n'amuwaayo ku lwaffe fenna, alirema atya okutugabira byonna awamu naye? Ani aliroopa abalondemu ba Katonda, nga Katonda yennyini abaggyako omusango? Ani alibasalira omusango okubasinga? Kristo eyafa, era eyazuukira, oyo aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, ye atuwolereza. Kale ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala? Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Olunaku lwonna tuli mu kabi ka kuttibwa ku lulwo. Tubalibwa ng'endiga ez'okuttibwa.” Naye mu ebyo byonna, tuwangulira ddala ku bw'oyo eyatwagala. Nkakasiza ddala nti newaakubadde bamalayika, wadde abafuzi n'ab'obuyinza abalala, newaakubadde ebiriwo, wadde ebigenda okubaawo, newaakubadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tebirisobola kutwawukanya na kwagala kwa Katonda, okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe. Njogerera ddala mazima mu Kristo, sirimba, n'omwoyo gwange nga gufugibwa mu Mwoyo Mutuukirivu, gukinkakasa nti ndi munakuwavu nnyo, era nnina obulumi obutakkiriza mutima gwange kuwummula, kubanga nandyagadde nze mwene, nkolimirwe Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab'eggwanga erimu. Be Bayisirayeli, abaaweebwa omukisa okuba abaana ba Katonda, era abaaweebwa ekitiibwa, n'endagaano, n'Amateeka, n'engeri ey'okusinzangamu Katonda, era abaasuubizibwa ebirungi. Bajjajjaabwe, Kristo ng'omuntu be yasibukamu. Katonda afuga byonna, atenderezebwenga emirembe gyonna. Amiina. Naye si kwe kugamba nti ebyo Katonda bye yasuubiza byalema okutuukirizibwa. Abayisirayeli bonna si be Bayisirayeli ddala. Era abazzukulu ba Aburahamu mu mubiri, si be baana ba Katonda. Wabula kyawandiikibwa nti: “Mu Yisaaka mwe muliva abaliyitibwa abazzukulu bo.” Ekyo kitegeeza nti abo abazaalibwa mu kuzaalibwa okwa bulijjo, si be baana ba Katonda; wabula abo abazaalibwa nga kiva ku kusuubiza kwa Katonda, be babalwa okuba abazzukulu ba Aburahamu abatuufu. Katonda bwe yali asuubiza, yagamba nti: “Ndikomawo mu kiseera ekituufu, era Saara aliba alina omwana ow'obulenzi.” Era si ekyo kyokka. N'abaana ba Rebbeeka baalina kitaabwe omu, Yisaaka jjajjaffe. Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yakobo namwagala, kyokka Esawu ne mmukyawa.” Kale tunaagamba tutya? Tunaagamba nti Katonda si mwenkanya? Nedda si bwe kiri, kubanga yagamba nti: “Ndisaasira oyo gwe nsaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe nkwatirwa ekisa.” N'olwekyo tekiva ku ebyo omuntu by'ayagala wadde by'akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. Ekyawandiikibwa kigamba Faraawo nti: “Nakutuusa ku bukulu, ndyoke njoleseze obuyinza bwange mu ggwe, era mmanyise erinnya lyange mu nsi zonna.” N'olwekyo Katonda asaasira oyo gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza omutima gw'oyo gw'ayagala okukakanyaza omutima. Kale onoŋŋamba nti: “Oba nga bwe kityo bwe kiri, lwaki Katonda anenya omuntu? Ani ayinza okuziyiza Katonda ky'ayagala?” Naye ggwe omuntu, ddala ggwe ani awakanya Katonda? Ekibumbe kigamba omubumbi nti: “Lwaki wammumba bw'oti?” Omubumbi tayinza kukola ky'ayagala mu bbumba lye, ekitole ekimu n'akibumbamu ekibya ekyekitiibwa, n'ekirala ekigayibwa? Ne Katonda si ky'ekyo kye yakola? Yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe. Kyeyava agumiikiriza ennyo abo be yasunguwalira, abaateekerwateekerwa okuzikirira. Era yayagala okulaga ekitiibwa kye ekinene ennyo eri abo be yakwatirwa ekisa, era abo okuva edda be yateekerateekera ekitiibwa. Abo ye ffe be yayita, si mu Bayudaaya bokka, wabula ne mu b'amawanga amalala, nga bw'agamba mu Kitabo kya Hoseya nti: “Abataali bantu bange, ndibayita abantu bange. Ne gwe nali ssaagala, ndimuyita mukwano gwange. Mu kifo kyennyini mwe baayitirwa abatali bantu bange, mwe baliyitirwa abaana ba Katonda Nnannyinibulamu.” Ne Yisaaya ayogera ku Yisirayeli n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Abantu ba Yisirayeli ne bwe balyenkana omusenyu gw'ennyanja obungi, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa. Mukama talirema kusalawo kutuukiriza mangu kye yagamba okukola ku nsi.” Era nga Yisaaya bwe yagamba edda nti: “Singa Mukama Omuyinzawaabyonna teyatulekerawo zzadde, twandibadde nga Gomora.” Kale tunaagamba tutya? Tunaagamba nti ab'amawanga amalala abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu, kwe kugamba, obutuukirivu obuva mu kukkiriza. Naye Abayisirayeli, abaanoonyanga Amateeka ag'okubatuusa ku butuukirivu obwo, tebaagazuula. Lwaki? Kubanga tebaabugoberera nga beesigama ku kukkiriza, naye beesigama ku bye bakola, ne beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako. Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Laba nteeka mu Siyooni ejjinja eryesittalwako, olwazi olulibasuula. Era buli akkiriza oyo, taliswazibwa.” Abooluganda, omutima gwange kye gwagala, era kye nsabira Abayisirayeli eri Katonda, kye kino nti balokolebwe. Nkakasa nga banyiikirira okussaamu Katonda ekitiibwa, naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu. Tebaamanya ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu, bwe batyo ne bagezaako okwezuulira ekkubo eryabwe ku bwabwe, ne batagoberera ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu. Ekigendererwa ky'Amateeka kituukirizibwa mu Kristo, buli akkiriza alyoke abe mutuukirivu. Musa yawandiika ebikwata ku butuukirivu obuva mu kuwulira Amateeka, nti alibugoberera bulimuweesa obulamu. Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bugamba bwe buti nti: “Togambanga mu mutima gwo nti: Ani alirinnya mu ggulu?” - kwe kugamba, okuggyayo Kristo akke ku nsi oba nti: “Ani alikka emagombe?” - kwe kugamba, aggyeyo Kristo okuva mu bafu. Kale obutuukirivu obwo bugamba butya? Bugamba nti: “Ekigambo kya Katonda kiri kumpi naawe; kiri mu kamwa ko, ne mu mutima gwo” - kwe kugamba, kye kigambo kye tutegeeza abantu, ekifa ku kukkiriza. Bw'oyatula n'akamwa ko nti: Yesu ye Mukama, era n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza, olirokolebwa. Omuntu akkiriza na mutima gwe n'aba omutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n'alokolebwa. Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti “Buli amukkiriza taliswazibwa,” tekisosola Muyudaaya na wa ggwanga ddala. Bonna Mukama waabwe ye omu, agaggawaza bonna abamukoowoola. Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokolebwa.” Naye baliyinza batya okukoowoola gwe batannakkiriza? Era baliyinza batya okukkiriza gwe batawulirangako? Era baliyinza batya okumuwulirako, nga tewali abategeeza? Era baliyinza batya okutegeezebwa, nga tewali batumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Okujja kw'abo abaleeta Amawulire Amalungi nga kulungi!” Naye si bonna abakkiriza Amawulire Amalungi. Yisaaya agamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye twayogera?” N'olwekyo okukkiriza kuva mu ebyo ebiwulirwa, n'ebiwulirwa biva mu kutegeeza bantu ebifa ku Kristo. Naye ka mbuuze: tebabiwuliranga? Ddala baabiwulira, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, n'ebigambo byabwe byatuuka ensi gy'ekoma.” Era ka mbuuze: abantu ba Yisirayeli tebamanyi? Musa ye yasooka okugamba nti: “Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abantu abatali ggwanga, mbaleetere mmwe okusunguwalira eggwanga eritalina magezi.” Ne Yisaaya aguma n'agamba nti: “Nalabibwa abo abatannoonyanga. Nalabikira abo abatambuulirizanga.” Kyokka eri Yisirayeli agamba nti: “Olunaku lwonna nalumala nga ngololedde emikono gyange abantu abatawulira era abajeemu.” Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Nedda si bwe kiri. Nange ndi Muyisirayeli, muzzukulu wa Aburahamu, era ndi wa mu kika kya Benyamiini. Katonda abantu be, be yamanya edda, teyabeegoberako ddala. Temumanyi ekyawandiikibwa kye kigamba ku Eliya, bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Bayisirayeli? Yagamba nti: “Mukama, batta abalanzi bo, ne boonoona ebifo byo eby'ebitambiro. Nze nzekka nze nsigaddewo, era nange banoonya okunzita.” Kyokka Katonda yamuddamu atya? Nti: “Neeterekeddewo abantu kasanvu, abatafukaamiriranga Baali.” Era bwe kiri ne mu biseera bino. Waliwo abasigaddewo, abaalondebwamu olw'ekisa kya Katonda. Katonda yabalondamu lwa kisa kye, si lw'ebyo bye baakola. Singa yabalondamu lw'ebyo bye baakola, ekisa kye kyandibadde tekikyali kisa. Kale tugambe tutya? Abayisirayeli baalemwa okufuna ekyo kye baali banoonya. Abatono abalondemu be baakifuna. Naye abalala emitima gyabwe gyakakanyazibwa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Katonda yabawa omwoyo ogutaliimu magezi. Yabawa amaaso agatalaba, n'amatu agatawulira okutuusa ku lunaku lwaleero.” Ne Dawudi agamba nti: “Ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego n'ekigu, enkonge n'ekibonerezo. Amaaso gaabwe gasiikirizibwe baleme okulaba, n'emigongo gyabwe ogikutamye ennaku zonna.” Kale ka mbuuze: Abayudaaya beesittala balyoke bagwe bazikirire? Nedda, si bwe kiri. Naye okwonoona kwabwe kwaleetera ab'amawanga amalala okulokolebwa, bo Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya. Naye oba nga okwonoona kwabwe kwaweesa ensi emikisa mingi, kale bonna bwe balidda eri Katonda emikisa tegirisingawo obungi? Kaakano ŋŋamba mmwe ab'amawanga amalala: nga bwe ndi omutume eri ab'amawanga amalala, nzisaamu omulimu gwange ekitiibwa, nga ngezaako okukwasisa ab'eggwanga lyange obuggya, ndyoke ndokole abamu ku bo. Bwe baagobebwa, ensi yatabagana ne Katonda. Kale bwe balikomezebwawo, kiriba kitya? Buliba bulamu obuliggyawo okufa. Ekitole kyonna kiba kitukuvu, ekitundu kyakyo ekisooka bwe kitukuzibwa. Era ekikolo ky'omuti bwe kiba ekitukuvu, n'amatabi gaba matukuvu. Naye oba ng'amatabi agamu ag'omuti omuzayiti ogw'omu nnimiro gaawogolwako, ggwe eyali ettabi ery'omuti omuzayiti ogw'omu nsiko n'osimbibwa mu kifo kyago, n'ogabana ku bugimu bw'omuti ogwo, leka kwewaana nti amatabi ago ogasinga. Bwe weewaana, jjukira nti si ggwe owaniridde ekikolo, wabula ekikolo kye kikuwaniridde. Naye oyinza okugamba nti: “Amatabi gaawogolwako, nze ndyoke nsimbibweko.” Weewaawo, gaawogolwako lwa butakkiriza bwago, naye ggwe ekikuyimirizzaawo kwe kukkiriza. N'olwekyo teweewaana, wabula tya weerinde. Kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi agaazaalibwa ku muti ogwo, era naawe talikusaasira. Kale manya ekisa n'obukambwe bwa Katonda. Akambuwalira abo abagudde n'akwatirwa ggwe ekisa, kasita onywerera ku kisa kye. Naye bw'otolikinywererako, naawe oliwogolebwako. Era n'Abayudaaya bwe baliba tebalemedde mu butakkiriza bwabwe, balizzibwako ku muti, kubanga Katonda asobolera ddala okubazzaako. Kuba oba nga ggwe, mu nkula yo, eyali ettabi ly'omuti omuzayiti ogw'omu nsiko, wasalibwa n'osimbibwa ku muti omuzayiti ogw'omu nnimiro ogutali gwa nkula yo, amatabi agaazaalibwa ku muti ogwo tegaliba mangu nnyo okuzzibwa ku muti gwago? Abooluganda, njagala mumanye ekyama kino, mulemenga okwewaanawaana. Abayisirayeli abamu baasigala bakakanyavu, okutuusa ab'amawanga amalala bonna lwe balimala okujja eri Katonda. Olwo n'Abayisirayeli bonna balirokolebwa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omulokozi alisibuka mu Siyooni, aliggya bazzukulu ba Yakobo mu byonoono byabwe. Era eyo y'eriba endagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.” Bo, mu bikwata ku Mawulire Amalungi, baba balabe ba Katonda, mmwe mulyoke mugasibwe. Naye mu bikwata ku kulondebwamu, baba baagalwa ba Katonda olwa bajjajjaabwe. Katonda bw'agabira abantu oba bw'abayita, teyejjusa. Nammwe edda mwajeemera Katonda, kyokka kaakano mwakwatirwa ekisa olw'obujeemu bw'Abayudaaya. Kaakano nabo bajeemye, balyoke bakwatirwe ekisa ekyakwatirwa mmwe. Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu, alyoke akwatirwe bonna ekisa. Ddala, obugagga bwa Katonda n'amagezi ge, n'okumanya kwe nga tebikoma! By'ateesa nga tebyefumiitirizika! Engeri ze nga tezitegeerekeka! Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ani yali amanye Mukama by'alowooza? Ani yali amuwadde amagezi? Oba ani yali amuwadde ekirabo naye alyoke amuddize?” Byonna ye yabitonda, ye abibeezaawo, era bibeerawo ku lulwe. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Kale abooluganda, mbeegayirira olw'okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe eri Katonda, gibe ekitambiro naye nga kiramu, ekitukuvu era ekimusanyusa. Okwo kwe kumusinzanga okw'amazima. Empisa zammwe mulemenga kuzifaananya n'ez'abantu ab'ensi, wabula mukyuke, mufune endowooza empya, mulyoke musobole okumanya ebyo Katonda by'ayagala: ebirungi, ebisanyusa, era ebituufu. Olw'ekisa Katonda kye yankwatirwa, ŋŋamba buli omu mu mmwe nti tasaanidde kwerowoozaako kiyitiridde, wabula yeerowoozengako mu ngeri esaanira, era yeekeberenga okusinziira ku kipimo ky'okukkiriza, Katonda kwe yamuwa. Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, nga byonna tebikola mulimu gumu, naffe bwe tutyo bwe tuli. Newaakubadde tuli bangi, naye tuli omubiri gumu mu Kristo, era tugattibwa wamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu. Kale tukozesenga ebirabo bye tulina ebyenjawulo, okusinziira ku kisa Katonda kye yatukwatirwa. Bwe kiba ekirabo eky'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, tukibategeezenga ng'okukkiriza kwaffe bwe kuli. Oba twafuna kuweereza, tunyiikirenga okuweereza. Oyo ayigiriza, anyiikirenga okuyigiriza. Abuulirira abalala, anyiikirenga okubabuulirira. Agaba, agabenga n'omutima gumu. Ali mu buyinza, abeerenga munyiikivu. N'oyo akolera abalala eby'ekisa, abikolenga nga musanyufu. Okwagalana kwammwe kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi. Mwagalanenga ng'abooluganda. Buli omu anyiikirirenga okuwa munne ekitiibwa. Mubeerenga banyiikivu, temugayaalanga. Mweweereyo ddala mu kuweereza Mukama. Okusuubira kwammwe kubakuumenga nga muli basanyufu. Mugumiikirizenga mu kubonaabona kwammwe, muyimusenga emitima gyammwe eri Katonda bulijjo. Mutoolenga ku byammwe muwe abantu ba Katonda bye beetaaga. Mwanirizenga abagenyi. Musabenga Katonda awe emikisa abo ababayigganya. Mubasabirenga mikisa, naye mulemenga kubakolimira. Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; munakuwalirenga wamu n'abo abanakuwala. Mussenga kimu mwenna. Temwekulumbazanga. Omuntu bw'akolanga ekibalumya, mmwe temwesasuzanga. Mukolenga ekyo abantu bonna kye balaba nga kye kirungi. Mukolenga kyonna kye musobola okutabagananga n'abantu bonna. Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye mulekenga Katonda ye abanga awoolera eggwanga. Mu byawandiikibwa, Mukama agamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.” N'olwekyo, era ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba: “Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga ekyokulya n'alya, era bw'alumwanga ennyonta omuwanga ekyokunywa n'anywa. Bw'okola bw'otyo, olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi. Towangulwanga bibi bikukolebwa balala, naye ggwe biwangulenga ng'okola ebirungi. Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga obuyinza bwonna buva eri Katonda, era abafuzi abaliwo, Katonda ye yabateekawo. N'olwekyo ajeemera abafuzi, aba ajeemedde abo Katonda be yateekawo. Era abajeema, balyereetera omusango, kubanga abafuzi tebaba ba kutiisa abo abakola obulungi, wabula abo abakola obubi. Oyagala obutatiisibwa mufuzi? Kale kola bulungi, olwo ajja kukusiima, kubanga ye muweereza wa Katonda ku lw'obulungi bwo. Naye bw'okola obubi tya, kubanga obuyinza bw'alina si bwa bwereere. Ye muweereza wa Katonda, era ye abonereza abakola obubi. N'olwekyo musaanidde okuba abawulize, si lwa kutya kubonerezebwa kwokka, naye n'olw'obulungi bw'emyoyo gyammwe. Era kyemuva muwa omusolo, kubanga abafuzi baba baweereza ba Katonda, bwe banyiikirira emirimu gyabwe. Kale bonna mubawenga bye muteekwa okubawa: asolooza omusolo mugumuwe, asolooza empooza mugimuwe, ateekwa okutiibwa mumutye, n'oweekitiibwa mukimuwe. Temubeeranga na bbanja eri muntu n'omu, wabula okwagalananga, kubanga ayagala muntu munne aba atuukirizza Amateeka. Ebiragiro bino: “Toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, tobeeranga na kwegomba kubi”, n'ebiragiro ebirala, byonna bigattiddwa mu kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.” Alina okwagala, takola muntu munne kabi. N'olwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza Amateeka gonna. Ate ebyo nga bikyali awo, mumanyi nti kino kye kiseera, essaawa etuuse, mmwe okuzuukuka mu tulo, kubanga kaakano okulokolebwa kwaffe kuli kumpi okusinga we twatandikira okukkiriza. Ekiro kinaatera okuggwaako, olunaku lusembedde. Kale tuve mu ebyo bye tubadde tukola mu kizikiza, tukwate ebyokulwanyisa bye tunaakozesa emisana. Tube n'empisa ezisaanira abantu abali mu kitangaala, sso si ez'abo abali mu kizikiza. Tuleme kwemalira mu binyumu ne mu kutamiira, newaakubadde mu bwenzi ne mu bukaba, wadde mu kuyombanga ne mu buggya. Naye mwambale Mukama Yesu Kristo, mulemenga kuwa mubiri bbeetu okukolanga bye gwegomba. Atali munywevu mu kukkiriza temumugobaganyanga, naye era temuwakananga naye ku ebyo by'abuusabuusaamu. Waliwo akkiriza nti ayinza okulya buli ekiriibwa. Naye atali munywevu mu kukkiriza, alekerayo ddala okulya ennyama. Oyo alya buli ekiriibwa alemenga kunyooma oyo atakirya. N'oyo atakirya, tanenyanga oyo akirya, kubanga Katonda teyamwegobaako. Ggwe ani anenya omuweereza w'omulala? Mukama we ye asalawo oba akola bulungi oba akola bubi. Era ajja kukola bulungi, kubanga Mukama ye amusobozesa okuyimirirawo. Omu alowooza olunaku olumu okusinga olulala obukulu, omulala alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Buli muntu anywererenga ku ky'alowooza okuba ekituufu. Oyo akuza olunaku, akikola lwa kuwa Mukama kitiibwa. N'oyo alya buli ekiriibwa, akirya lwa kuwa Mukama kitiibwa, kubanga yeebaza Katonda. Era n'oyo atakirya, akireka lwa kuwa Mukama kitiibwa, era yeebaza Katonda. Tewali muntu mu ffe abeera mulamu ku bubwe yekka, era tewali afa ku bubwe yekka. Bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama. Era bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. N'olwekyo oba tuba balamu oba tufa, tuba ba Mukama. Kristo kyeyava afa n'azuukira, alyoke abeerenga Mukama w'abafu n'abalamu. Kale ggwe, lwaki onenya muganda wo? Oba ggwe, lwaki onyooma muganda wo? Ffenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ya Katonda kw'asalira emisango, kubanga kyawandiikibwa nti: “Mukama agamba nti: nga bwe ndi omulamu, buli muntu alinfukaamirira. Era buli muntu alintendereza nze Katonda.” N'olwekyo buli muntu mu ffe alyennyonnyolerako mu maaso ga Katonda. Kale tulekere awo okunenyagananga, naye mumalirire obutaleetawo kyesittaza wa luganda oba ekimusuula mu kibi. Nga bwe ndi obumu ne Mukama waffe Yesu Kristo, mmanyi era nkakasa nga tewali kyakulya kizira ku bwakyo, wabula kiba kya muzizo eri oyo akirowooza nti kya muzizo. Bw'onakuwaza muganda wo olw'emmere gy'olya, oba tokyafugibwa kwagalana. Oyo Kristo gwe yafiirira tomulekanga kuzikirira olw'ekyo ky'olya. Kale ekyo mmwe kye muyita ekirungi, kiremenga kuvumibwa. Obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kulya na kunywa, wabula mu butuukirivu na mirembe na ssanyu, Mwoyo Mutuukirivu by'atuwa. Aweereza bw'atyo Kristo, asanyusa nnyo Katonda, era abantu bamusiima. Kale tunyiikirirenga ebireeta emirembe n'ebiyamba buli omu okuzimba munne. Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw'ebyokulya. Ebyokulya byonna birungi, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera abalala okugwa mu kibi. Kirungi obutalyanga nnyama, newaakubadde okunywanga omwenge, wadde okukolanga ekirala kyonna ekyesittaza muganda wo [oba ekimunyiiza oba ekimunafuya]. Ggwe ky'okkiriza, kikuumenga nga kimanyiddwa ggwe ne Katonda. Wa mukisa ateesalira musango kumusinga mu ebyo by'alowooza okuba ebituufu. Kyokka oyo abuusabuusa, bw'alya azza musango, kubanga akola ekyo omutima gwe kye gutakkiriza. Era buli ekitava mu kukkiriza, kiba kibi. Ffe ab'amaanyi mu kukkiriza tusaana okuyamba abo abanafu, nga tetwefaako ffekka. Buli omu mu ffe alowoozenga ku bulungi bwa muntu munne, alyoke amuzimbenga mu kukkiriza. Ne Kristo teyeerowoozaako yekka, wabula, nga bwe kyawandiikibwa, “Abantu bye baakuvuma byadda ku nze.” Byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tubeerenga n'essuubi olw'okugumiikiriza n'olw'amaanyi ebyawandiikibwa ge bituwa. Era Katonda asibukamu okugumiikiriza era n'amaanyi, abawe okussanga ekimu nga Kristo Yesu bw'ayagala, mulyoke mutenderezenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo gumu n'eddoboozi limu. Mwaniriziganenga nga Kristo bwe yabaaniriza mmwe, Katonda alyoke aweebwenga ekitiibwa. Ŋŋamba nti Kristo yafuuka omuweereza w'abakomole, okulaga nga Katonda bw'ali omwesigwa, n'okutuukiriza ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe; era n'okusobozesa ab'amawanga amalala okutendereza Katonda olw'okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyennaavanga nkutendereza mu b'amawanga amalala, ne nnyimba nga ntenda erinnya lyo.” Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti: “Mmwe ab'amawanga amalala, musanyukirenga wamu n'abantu be.” Era nti: “Mwenna ab'amawanga amalala mutenderezenga Mukama. Era abantu bonna bamutenderezenga.” Era ne Yisaaya agamba nti: “Omuzzukulu wa Yesse alijja, alisituka okufuga ab'amawanga amalala. Era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.” Katonda asibukamu okusuubira, abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okumukkiriza, mulyoke mweyongerenga okubeera n'essuubi olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. Baganda bange, nange nze nnyini nkakasiza ddala nti mmwe mujjudde empisa ennungi, mulina okumanya okujjuvu, era muyinza okubuuliriragana. Naye mu bitundu ebimu eby'ebbaluwa eno, mbawandiikidde n'obuvumu, nga ndiko bye mbajjukiza. Kino nkikoze, kubanga Katonda yankwatirwa ekisa, n'ampa okuba omuweereza wa Kristo Yesu nga nkolera mu b'amawanga amalala. Nkola omulimu ogw'obwakabona, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi agava eri Katonda, ab'amawanga amalala balyoke babe ekirabo Katonda ky'asiima, nga kitukuziddwa Mwoyo Mutuukirivu. N'olwekyo mu Kristo Yesu nnyinza okwenyumiriza olw'omulimu gwe nkoledde Katonda. Kubanga siguma kwogera ku kintu na kimu, wabula ku ebyo Kristo bye yakolera mu nze, n'afuula ab'amawanga amalala abawulize eri Katonda, ng'ayita mu ebyo bye nayogera ne bye nakola, mu maanyi g'ebyewuunyo n'ebyamagero, ne mu maanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. Bwe ntyo okuviira ddala e Yerusaalemu n'okwetooloola okutuuka mu Yilliriko, nategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Kristo. Kye nduubirira bulijjo, kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi mu bifo ebyo erinnya lya Kristo gye litawulirwangako, nnemenga okuzimba ku musingi gw'omuntu omulala, wabula nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abo abatategeezebwanga bimufaako balimulaba, n'abatamuwulirangako balimutegeera.” Ekyo kye kyanziyiza emirundi emingi okujja gye muli. Naye kaakano nga bwe mmalirizza omulimu gwange mu bitundu bino, era nga bwe mmaze emyaka emingi nga njagala okujja okubalaba, bwe ndiba ŋŋenda mu Sipaniya, nsuubira okuyitirako eyo ewammwe mbalabeko okumala ennaku eziwerako. Bwe ndimala okusanyukirako awamu nammwe, njagala munnyambe okutuuka mu Spaniya. Naye kaakano ŋŋenda Yerusaalemu okutwalira abantu ba Katonda obuyambi. Ab'e Makedooniya n'ab'e Akaya baasiima okuwaayo ku byabwe, okuyamba abantu ba Katonda abaavu, abali e Yerusaalemu. Ekyo be baakyesiimira okukikola. Naye era balina ebbanja okuyamba abaavu abo, kubanga ab'amawanga amalala baagabana ku birungi eby'omwoyo eby'Abayudaaya, n'olwekyo basaana nabo okuyamba Abayudaaya mu by'omubiri. Kale bwe ndimaliriza omulimu ogwo, nga mmaze okubakwasa byonna ebibaweerezeddwa bo, ndivaayo ne mpitira ewammwe, nga ŋŋenda e Sipaniya. Mmanyi nti bwe ndijja gye muli, ndijja n'emikisa gya Kristo emijjuvu. Abooluganda, mbeegayiridde ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kwa Mwoyo Mutuukirivu, munyiikirire wamu nange okunsabira eri Katonda. Munsabire mpone abo abatalina kukkiriza abali mu Buyudaaya, era n'abantu ba Katonda abali mu Yerusaalemu, basiime bye mbatwalira. Olwo nga Katonda ayagadde, ndijja gye muli nga nzijudde essanyu, mpummuleko nga ndi wamu nammwe. Katonda agaba emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina. Mbanjulira mwannyinaffe Foyibe, omuweereza w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu Kenkereya. Mumwanirize ng'abantu ba Katonda bwe baaniriza, kubanga muntu wa Mukama waffe. Era mumuwe kyonna kye yeetaaga ng'ali nammwe, kubanga naye yennyini yayamba bangi, nga nange sibuzeemu. Munnamusize Priska ne Akwila, be nkola nabo mu kuweereza Kristo Yesu, abeewaayo okusalwako obulago okuwonya obulamu bwange. Abo si nze mbeebaza nzekka, wabula n'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo eby'abamawanga amalala bibeebaza. Munnamusize n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu nnyumba yaabwe. Munnamusize mukwano gwange Epayineeto, eyali omubereberye mu Asiya okukkiriza Kristo. Munnamusize Mariya eyabateganira mmwe ennyo bw'atyo. Munnamusize Anduroniiko ne Yuniya baganda bange, be nali nabo mu kkomera, abamanyiddwa obulungi mu batume, era abansooka okubeera abagoberezi ba Kristo. Mulamuse Ampuliyaato, mukwano gwange mu Mukama waffe. Mulamuse Wurubaano akolera awamu naffe mu kuweereza Kristo, mulamuse ne Sutaaku mukwano gwange. Mulamuse Apele Omukristo omutuufu. Mulamuse ab'omu maka ga Arisitobulo. Munnamusize ne Herodiyooni, muganda wange. Mulamuse n'ab'omu nnyumba ya Narukiso, abagoberezi ba Mukama waffe. Munnamusize Turufayina ne Turufoosa abakola omulimu gwa Mukama waffe. Munnamusize ne Perusi omwagalwa, akoledde ennyo Mukama waffe. Mulamuse Ruufo omulondemu wa Mukama waffe. Mulamuse ne nnyina eyafuuka mmange. Mulamuse Asunkurito, Fulegooni, Herume, Paturoba, Heruma, n'abooluganda abali awamu nabo. Mulamuse Filologo ne Yuliya, Nerewo ne mwannyina, ne Olimpa, n'abantu ba Katonda bonna abali nabo. Mulamusagane mu ngeri eraga okwagalana okw'abooluganda. Ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo bibalamusizza. Abooluganda, mbeegayiridde mwerindenga abo abaleeta ebyawukanya n'ebyesittaza abantu, ebirwanyisa okuyigirizibwa kwe mwafuna. Mubeewalenga. Ab'engeri eyo si baweereza ba Kristo Mukama waffe, wabula baweereza ba mbuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi era eby'okuwaanawaana, ne balimbalimba emitima gy'abantu abatalina kabi. Wonna wonna abantu baawulira nga mmwe bwe muli abawulize eri Katonda, kyenva mbeera omusanyufu ku lwammwe. Njagala mubenga bagezi mu kukola ebirungi, naye nga temumanyi kukola bibi. Olwo amangu ddala Katonda atuwa emirembe, ajja kubetentera Sitaani wansi w'ebigere byammwe. Emikisa gya Mukama waffe Yesu gibeerenga nammwe. Timoteewo akolera awamu nange abalamusizza. Era nange Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe. Gaayo ansuza, era nga mu nnyumba ye mwe mukuŋŋaanira ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, abalamusizza. Erasto omuwanika w'ekibuga era ne muganda waffe Kwanto babalamusizza. Tutenderezenga Katonda ayinza okubanyweza mu kukkiriza. Ago ge Mawulire Amalungi ge ntegeeza abantu, ge ga Yesu Kristo, era kye kyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna. Naye kaakano ekyama ekyo kyamanyisibwa mu byawandiikibwa abalanzi. Era Katonda ataggwaawo yalagira kimanyibwe ab'amawanga gonna, abantu balyoke bakkirize Katonda era bamuwulirenga. Kale Katonda oyo omu era omugezi yekka, aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe n'emirembe. Amiina. Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, nze ne Sotene owooluganda, tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo eky'omu Korinto. Mwayitibwa okuba abatukuvu, ne mutukuzibwa mu Kristo Yesu, awamu ne bonna abakoowoola mu buli kifo erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama waabwe era owaffe. Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe. Katonda wange eyabakwatirwa mmwe ekisa ng'ayita mu Kristo Yesu, mmwebaza bulijjo olw'ekyo kye yabakolera. Mwagaggawalira mu Kristo, ne mufuna buli kintu, omuli bye mwogera byonna ne bye mumanyi byonna, kubanga ebyo bye twabategeeza ku Kristo, byanywerera ddala mu mmwe. N'olwekyo mulina buli kirabo kyonna, nga mulindirira okulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo. Era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, muleme kuba na kye munenyezebwamu ku lunaku Mukama waffe Yesu Kristo lw'aliddirako. Katonda eyabayita okwegatta n'Omwana we, Mukama waffe Yesu Kristo, mwesigwa. Abooluganda, mbeegayirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna mukkiriziganyenga mu bye mwogera, mulemenga kwawukanamu, naye mubenga ba mwoyo gumu n'emmeeme emu. Ab'omu nnyumba ya Kuloowe bantegeeza ebifa ku mmwe baganda bange, nga mu mmwe mulimu ennyombo. Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu mu mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, oba nti ndi wa Apollo, oba nti ndi wa Keefa, oba nti ndi wa Kristo. Kwe kugamba Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yali akomereddwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo? Neebaza Katonda, kubanga nze sibatizanga wadde omu ku mmwe, okuggyako Krispo ne Gaayo. N'olwekyo tewali ayinza kugamba nti yabatizibwa mu linnya lyange. (Era nabatiza n'ab'omu nnyumba ya Siteefano. Okuggyako abo, simanyi oba nga nabatizaayo omulala.) Kristo teyantuma kubatiza, wabula yantuma okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, awatali kwesigama ku magezi ag'abantu obuntu, si kulwa ng'omusaalaba gwa Kristo guggwaamu amaanyi. Ebigambo ebifa ku musaalaba birabika nga bya busirusiru eri abo abali mu kkubo erigenda mu kuzikirira, naye eri ffe abalokolebwa, biba maanyi ga Katonda, kubanga kyawandiikibwa nti: “Ndizikiriza amagezi g'abagezi, ne nzigyawo okutegeera kw'abategeevu.” Omugezi ali ludda wa? Omunnyonnyozi w'amateeka ali ludda wa? Omuwakanyi ow'omulembe guno ali ludda wa? Amagezi g'ensi Katonda tagafudde busirusiru? Katonda mu magezi ge, alaze nti abantu tebasobola kumumanya lwa magezi agaabwe, kyavudde asiima okuyita mu busirusiru bw'ebigambo bye tutegeeza abantu, alyoke alokole abo abamukkiriza. Abayudaaya baagala kulaba byewuunyo. Abayonaani banoonya magezi. Naye ffe tutegeeza abantu Kristo eyakomererwa ku musaalaba. Kristo oyo nkonge eri Abayudaaya, ate busirusiru eri ab'amawanga amalala. Naye Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda eri abo Abayudaaya n'Abayonaani, Katonda b'ayise, kubanga obusirusiru bwa Katonda, businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda, businga abantu amaanyi. Kale abooluganda, mujjukire nga bwe mwali, Katonda bwe yabayita. Batono mu mmwe ensi be yandiyise ab'amagezi, batono abaali ab'obuyinza, era batono abaali abeekitiibwa. Kyokka Katonda yalonda ebyo ensi by'eyita ebisirusiru, alyoke akwase ab'amagezi ensonyi. Era yalonda ebyo ensi by'eyita ebinafu, alyoke akwase eby'amaanyi ensonyi. Katonda yalonda ebyo ensi by'egaya era by'enyooma, era by'eyita ebitaliiwo, alyoke azikirize ebyo ensi by'eyita ebikulu, waleme kubaawo yeenyumiriza mu maaso ga Katonda. Kyokka mmwe Katonda yabagatta ne Kristo, gwe yafuula amagezi gaffe. Mu Kristo ono, Katonda mwe yatufuulira abatuukirivu, mwe yatutukuliza era mwe yatununulira, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.” Abooluganda, bwe najja gye muli, okubategeeza ekyama kya Katonda, saakozesa bigambo bizibu okutegeera, oba eby'amagezi ennyo, kubanga bwe nali nammwe nasalawo okwerabira ebirala byonna, okuggyako Yesu Kristo, eyakomererwa ku musaalaba. Bwe nali mu mmwe, nali munafu era nga nkankana nnyo olw'okutya. Era mu kwogera kwange ne mu kuyigiriza kwange, temwalimu bigambo bya magezi ebisendasenda, wabula mwalimu amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, okukkiriza kwammwe kuleme kunywerera ku magezi ga bantu buntu, wabula ku maanyi ga Katonda. Naye mu abo abakulu mu mwoyo, twogera eby'amagezi, naye eby'amagezi agatali ga bantu ab'oku nsi kuno, wadde ag'abafuzi b'ensi eno, abaggwaawo, wabula twogera eby'amagezi ga Katonda agatamanyiddwa bantu, era agaakisibwa. Katonda yagateekateeka edda n'edda lyonna, gabe ekitiibwa kyaffe. Tewali n'omu ku bafuzi ku nsi kuno ategeera magezi ago, kubanga singa baagategeera, tebandikomeredde ku musaalaba Mukama oweekitiibwa. Naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebyo eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawulirangako, era ebitalowoozebwangako muntu n'omu, by'ebyo Katonda bye yategekera abamwagala.” Kyokka ffe, Katonda ng'ayita mu Mwoyo we, yatumanyisa ekyama ekyo, kubanga Mwoyo anoonyereza buli kintu, n'ekyo ekiri mu Katonda yennyini. Tewali amanya birowoozo bya muntu, wabula omwoyo gwe gwe gubimanya. Bwe kityo ne Mwoyo wa Katonda ye yekka amanya ebya Katonda. Tetwaweebwa mwoyo gwa ku nsi kuno, wabula twaweebwa Mwoyo eyava ewa Katonda, tulyoke tutegeerenga ebyo Katonda by'atuwa. N'olwekyo tetwogera bigambo bya magezi ga bantu buntu, wabula twogera ebyo Mwoyo by'ayigiriza, ne tubinnyonnyola abo abategeera ebya Mwoyo. Naye omuntu atafugibwa Mwoyo wa Katonda, tasobola kukkiriza bya Mwoyo wa Katonda, kubanga abiraba ng'eby'obusirusiru. Era tayinza kubitegeera, kubanga byekenneenyezebwa muntu alina Mwoyo wa Katonda. Oyo afugibwa omwoyo yeekenneenya byonna, naye ye tewali n'omu amwekenneenya, kubanga, “ani amanyi Mukama by'alowooza alyoke amuwabule”? Kyokka ffe tumanyi endowooza ya Kristo. Kale abooluganda, ssaasobola kwogera nammwe ng'abafugibwa omwoyo, naye nayogera nammwe ng'abantu abafugibwa omubiri, abakyali abato mu Kristo. Nabanywesa mata, ssaabaliisa mmere, kubanga mwali temunnagisobola. Era ne kaakano temunnagisobola, kubanga mukyafugibwa mubiri. Kale obuggya n'okuyombagana bwe bibeera mu mmwe, olwo nga temufugibwa mubiri, era nga n'empisa zammwe si za bantu buntu? Kale omu mu mmwe bw'agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” n'omulala nti: “Nze ndi wa Apollo,” olwo temuba ng'abantu obuntu? Kale Apollo ye ani? Ye Pawulo ye ani? Si baweereza buweereza abaabaleetera okukkiriza, nga Mukama bwe yawa buli omu? Nze nasiga, Apollo n'afukirira, kyokka Katonda ye yakuza. Oyo asiga, n'oyo afukirira si be bakulu, wabula Katonda akuza. Oyo asiga, n'oyo afukirira, bonna benkana, era buli omu aliweebwa empeera ye, okusinziira ku mulimu gwe yakola, kubanga ffe tuli bakozi, abakolera awamu ne Katonda. Mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda. Nakola omulimu gw'omuzimbi omukugu, nga nsinziira ku kisa Katonda kye yankwatirwa, ne nteekawo omusingi, n'omuzimbi omulala kw'azimbira. Kyokka buli aguzimbirako yeegenderezenga, kubanga Yesu Kristo yateekebwawo, nga gwe musingi gwokka, era tewali ayinza kuteekawo musingi mulala. Kale ku musingi ogwo, omuntu bw'azimbisaako zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, emiti, essubi, ebisasiro – omulimu gwa buli omu gulirabibwa. Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lwe luligwoleka, kubanga lulikya na muliro. Era omuliro ogwo gwe gulyoleka omulimu gwa buli omu nga bwe gufaanana. Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. Naye bwe kiryokebwa, alikifiirwa. Wabula ye yennyini alirokolebwa, kyokka ng'ali ng'ayise mu muliro. Temumanyi nga muli ssinzizo lya Katonda, era nga Mwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? Kale omuntu bw'azikiriza essinzizo lya Katonda, omuntu oyo alizikirizibwa Katonda, kubanga essinzizo lya Katonda ttukuvu, era essinzizo eryo ye mmwe. Waleme kubaawo yeerimba. Bwe wabaawo mu mmwe eyeerowooza okuba omugezi mu by'ensi, afuukenga musiru, lw'aliba omugezi, kubanga amagezi g'ensi, buba busirusiru mu maaso ga Katonda. Kyawandiikibwa nti: “Katonda akwatira abagezi mu bugezigezi bwabwe.” Era kyawandiikibwa nti: “Mukama amanyi nti ebirowoozo by'abagezi tebiriimu nsa.” Kale mulemenga kwenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe. Oba Pawulo, oba Apollo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo, byonna byammwe. Mmwe muli ba Kristo, ate Kristo wa Katonda. Abantu basaana batulabenga nti tuli baweereza ba Kristo, abaakwasibwa ebyama bya Katonda, kubanga omuwanika kimugwanira okuba omwesigwa. Naye nze sifaayo, mmwe oba omuntu omulala yenna okunsalira omusango. Nange nzennyini sigwesalira, kubanga seemanyiiko musango. Naye ekyo tekitegeeza nti sirina musango, wabula agunsalira ye Mukama. N'olwekyo temusaliranga muntu musango ng'ekiseera tekinnatuuka, era nga Mukama tannajja. Bw'alijja, alimulisa buli kintu ekikwekeddwa mu kizikiza; era aliraga ebirowoozo ebiri mu mitima gy'abantu. Olwo n'alyoka awa buli omu ettendo erimusaanira. Abooluganda, ebyo byonna mbyogedde ku Apollo ne ku nze nzennyini, ng'ekyokulabirako, biryoke bibayambe, muyige ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Tosukkanga kipimo.” Era mu mmwe temusaana kubaamu agulumiza muntu n'omu, ate n'anyooma omulala. Ani akufudde omukulu wa banno? Kiki ky'olina ky'otaaweebwa buweebwa? Kale oba nga waweebwa, lwaki weenyumiriza ng'ataaweebwa buweebwa? Mumaze okufuna byonna bye mwetaaga. Mugaggawadde. Mufuuse bakabaka, newaakubadde nga ffe si bwe tuli. Ddala nandyagadde mube bakabaka, naffe tulyoke tubeere bakabaka wamu nammwe. Kubanga ndowooza nti ffe abatume, Katonda yatuwa ekifo ekisemberayo ddala, nga tuli ng'abasaliddwa ogw'okuttibwa, kubanga twafuuka ekyo ensi n'abantu bonna kye beerolera. Ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi. Mmwe muweebwa ekitiibwa, naye ffe tunyoomebwa. Era n'okutuusa kati tulumwa enjala n'ennyonta, tetulina kye twambala, tukubibwa, era tubungeeta bubungeesi; era tutegana nga tukola n'emikono gyaffe. Batukolimira, ffe ne tubasabira mikisa. Bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza. Bwe tuvumibwa, ffe tuddamu na ggonjebwa. Era okutuusa kaakano, tuli ng'ebisasiro by'ensi era obusa bwa byonna. Ebyo sibiwandiika lwa kubaswaza, wabula lwa kubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa. Kubanga newaakubadde nga mu Kristo mulina abayigiriza nkumi na nkumi, naye temulina bakitammwe bangi. Kubanga olw'okubaleetera Amawulire Amalungi, nafuuka kitammwe mu Kristo Yesu. Kale mbegayiridde mulabirenga ku nze. Kyenvudde mbatumira Timoteewo. Ye mwana wange omwagalwa era omwesigwa. Alibajjukiza ebyo bye ngoberera mu bulamu bwange mu Kristo, era bye njigiriza wonna wonna mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo. Abamu mu mmwe beekulumbaza nga balowooza nti nze sigenda kujja gye muli. Kyokka Mukama bw'alyagala, ndijja mangu gye muli mmanyire ddala ebyo abeekulumbaza bye baasooka okukola, sso si ebyo bye boogera obwogezi. Kubanga Obwakabaka bwa Katonda tebuli mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi. Mwagalako ki? Mwagala njije na muggo oba njije nga njijudde okwagala era n'obukkakkamu? Tutegedde nti mu mmwe mulimu obwenzi, obutasangibwa na mu batalina kukkiriza, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n'amufuula mukazi we. Ne mwekulumbaza sso nga mwandinakuwadde bunakuwazi, era eyakola ekyo yandibadde aggyibwa mu mmwe. Nze newaakubadde siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekikolwa ekyo, mmaze okumusalira omusango okumusinga. Mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo, era nga n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu Kristo gali nammwe muweeyo eri Sitaani omuntu eyakola ekyo, omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku Mukama waffe Yesu lw'addirako. Temusaana kwekulumbaza. Temumanyi nti ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? Muggyeewo ekizimbulukusa ekyo eky'edda, mulyoke mubeerere ddala ekitole ekiggya, nga ddala temuliimu kizimbulukusa, kubanga Kristo, endiga ey'Okuyitako kwaffe, atambiddwa. Kale tulye embaga eteri ya mugaati ogulimu ekizimbulukusa eky'edda, eky'ettima n'obubi, naye ey'omugaati ogutaliimu kizimbulukusa: bwe bulongoofu, obwesimbu, n'amazima. Mu bbaluwa gye nabawandiikira, nabagamba obuteetabanga na benzi. Kyokka sigamba abenzi abatalina kukkiriza, ab'omululu oba abanyazi, oba abasinza ebitali Katonda, kubanga okwewala abo, mpozzi mwandibadde nga muviira ddala ku nsi kuno. Naye kaakano mbawandiikira, mulemenga kwetaba na muntu n'omu eyeeyita owooluganda, bw'aba nga mwenzi oba ow'omululu, oba asinza ebitali Katonda, oba omuvumi w'abantu, oba omutamiivu, oba omunyazi. Ow'engeri eyo n'okulya temulyanga naye. Omu mu mmwe bw'abaako ky'avunaana munne, lwaki aguma okutwala ensonga ze mu balamuzi abatalina kukkiriza, n'atazitwala mu bantu ba Katonda? Temumanyi nti abantu ba Katonda be balisalira ensi omusango? Oba nga mmwe mulisalira ensi omusango, kale temusobola kusala musango mu busonga obwo obutono? Temumanyi nti ffe tulisalira bamalayika omusango? Kale tuyinza tutya okulemwa okusala emisango egy'omu bulamu buno? Kale bwe muba n'emisango egy'engeri eyo, lwaki mugitwala eri abo ab'ebweru, abanyoomebwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo? Kino nkyogedde kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuulamu muntu mugezi asobola okusala omusango gw'abooluganda? Ddala owooluganda awawaabire muganda we eri abo abatalina kukkiriza? Naye n'okuwozaŋŋanya mwekka na mwekka, kiraga nti muli mu kabi. Lwaki temugumiikiriza nga mukoleddwa akabi? Lwaki temugumira bya kulyazaamanyizibwa? Naye mmwe mwennyini mukola bubi, era mulyazaamaanya. Kino mukikola ne ku baganda bammwe. Temumanyi nti abatali batuukirivu tebalifuna mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: abo abakola eby'obukaba, abasinza ebitali Katonda, abenzi, abalya ebisiyaga, ababbi, ab'omululu, abatamiivu, abawaayiriza, n'abanyazi, tebalifuna mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali ng'abo. Naye olw'erinnya lya Mukama Yesu Kristo n'olwa Mwoyo wa Katonda, mwanaazibwa era mwatukuzibwa, ne muweebwa obutuukirivu. Omu ayinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Weewaawo, naye si byonna ebigasa. Nange nnyinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Naye nga byo si bye binfuga. N'omulala ayinza okugamba nti: “Ebyokulya byatonderwa lubuto, n'olubuto lwatonderwa byakulya.” Weewaawo, naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri teguliiwo lwa bwenzi, wabula guliwo lwa Mukama, ne Mukama lwa mubiri. Katonda yazuukiza Mukama, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge. Temumanyi nti emibiri gyammwe bitundu bya mubiri gwa Kristo? Kale nnyinza okuddira ebitundu by'omubiri gwa Kristo ne mbifuula ebitundu by'omwenzi? Ekyo siyinza kukikola. Temumanyi nti eyeegatta n'omwenzi, bombi baba omubiri gumu? Kubanga kyawandiikibwa nti: “Bombi baliba omubiri gumu.” Kyokka oyo eyeegatta ne Mukama, bombi baba omu mu mwoyo. Mwewalenga obwenzi. Buli kibi omuntu ky'akola, kiba bweru wa mubiri gwe. Kyokka oyo ayenda, akola ekibi ku mubiri gwe gwennyini. Temumanyi nti emibiri gyammwe lye ssinzizo lya Mwoyo Mutuukirivu abeera mu mmwe, Katonda gwe yabawa? Era temumanyi nti temuliiwo ku lwammwe? Mwagulwa n'omuwendo munene. N'olwekyo emibiri gyammwe mugikozesenga ebyo ebiweesa Katonda ekitiibwa. Kaakano bino bye bikwata ku ebyo bye mwampandiikira. Kirungi omusajja alemenga kuwasa. Kyokka olw'okwewala obwenzi, kisaana buli musajja afune omukazi owuwe, era na buli mukazi afune bba. Omusajja atuukirizenga ekimubanjibwa mu bufumbo, era n'omukazi akolenga bw'atyo. Omukazi si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula bba ye agulinako obuyinza. Bw'atyo n'omusajja si ye alina obuyinza ku mubiri gwe, wabula mukazi we ye agulinako obuyinza. Abafumbo, buli omu alemenga kugaana munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubenga n'ebbanga ery'okwegayiririramu Katonda. Naye oluvannyuma muddiŋŋanenga, sikulwa nga Sitaani abakema olw'obuteefuga bwammwe. Ekyo nkyogera nga mbalaga nti muyinza okukikola, sso si tteeka. Nandyagadde abantu bonna babe nga nze bwe ndi. Kyokka buli omu alina ekirabo kye ekyenjawulo, Katonda kye yamuwa: omu kya ngeri eno, n'omulala kya ngeri ndala. Abo abatali bafumbo ne bannamwandu, mbategeeza nti singa basigalira awo nga nze bwe ndi, kyandibadde kirungi. Naye oba nga tebasobola kwefuga, kale bawase oba bafumbirwe, kubanga okufumbiriganwa kusinga okubonyaabonyezebwa okwegomba. Bo abafumbo mbalagira bwe nti, si nze mbalagira, wabula Mukama. Omukazi tanobanga ku bba. Singa anoba, taafumbirwenga nate. Ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo, addiŋŋane ne bba. Abalala bo mbagamba, nze sso si Mukama, nti owooluganda bw'abanga n'omukazi atali mukkiriza, ng'ayagala okubeera naye, tamugobanga. Era singa omukazi abeera n'omusajja atali mukkiriza, ng'ayagala okubeera naye, tamunobangako. Kubanga omusajja atali mukkiriza, atukuzibwa olw'okwegatta ne mukazi we, era n'omukazi atali mukkiriza atukuzibwa olw'okwegatta ne bba omukkiriza. Singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu, naye kaakano batukuvu. Kyokka oyo atali mukkiriza bw'ayagala okwawukana, baawukane. Muganda waffe oba mwannyinaffe tewali kimusiba mu ekyo, kubanga Katonda yatuyitira mirembe. Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng'olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza, omanyi otya ng'olirokola mukazi wo? Buli omu abe mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda bwe yamuyitira. Ekyo kye kiragiro kye mpa mu bibiina byonna eby'abakkiriza Kristo. Eyakkiriza nga mukomole aleme okwegomba okuba ataakomolebwa. N'oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kwegomba kukomolebwa. Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kye kikulu, wabula ekikulu kwe kukwatanga ebiragiro bya Katonda. Buli omu asigalenga mu mbeera gye yayitirwamu. Wayitibwa ng'oli muddu? Kale tofaayo. Naye oba nga ofunye omukisa okufuuka ow'eddembe, togufiirwa. Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula muntu we wa ddembe. N'oyo Mukama gwe yayita nga wa ddembe, muddu mu Kristo. Mmwe yabagula omuwendo munene. N'olwekyo temufuukanga baddu ba bantu. Abooluganda, buli omu abeerenga mu mbeera gye yalimu, Katonda bwe yamuyita. Ebikwata ku batali bafumbo, sirina kiragiro kiva eri Mukama, naye mbawa ekirowoozo kyange ng'omuntu eyasaasirwa Mukama, ne nfuuka omwesigwa. Okusinziira ku bizibu ebiriwo kaakano, ndowooza nti omuntu kirungi okusigala nga bw'ali. Bw'oba n'omukazi leka kugezaako kumweggyako. Bw'oba toli mufumbo, leka kugezaako kunoonya mukazi wa kuwasa. Kyokka bw'owasa oba tokoze kibi. Era n'omukazi atali mufumbo bw'afumbirwa, aba takoze kibi. Wabula abo abafumbirwa banaabeeranga n'emitawaana egy'obufumbo. Naye mmwe nandyagadde okugibawonya. Abooluganda, mbagamba nti ekiseera kisigadde kitono, era okuva kaakano abo abalina abakazi babe ng'abatalina, n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba, n'abo abasanyuka, babe ng'abatasanyuka. Abo abagula babe ng'abatalina bintu. Era n'abo abakozesa eby'oku nsi kuno, babe ng'abatabikozesa, kubanga ensi eno nga bw'eri, eggwaawo. Njagala mulemenga kweraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku mulimu gwa Mukama, era Mukama gw'ayagala okusanyusa. Naye omufumbo, yeeraliikirira bya nsi, nga bw'anaasanyusa mukazi we. Aba yeesazeemu, alowooza wabiri. Era omukazi atali mufumbo oba omuwala, yeemalira ku bya Mukama, ayagala abe mutukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo, yeeraliikirira bya nsi, nga bw'anaasanyusanga bba. Ebyo mbyogera lwa bulungi bwammwe, sibatikka mugugu, wabula mbalaga bulazi ekisinga obulungi, mulyoke mweweere ddala Mukama, nga temutaataaganyizibwa. Naye omusajja bw'alowoozanga nti tayisizza bulungi omuwala gw'abeera naye bw'atamuwasa, ate nga tayinza kwefuga, akole nga bw'ayagala; bafumbiriganwe, ekyo si kibi. Naye oyo omunywevu mu mutima gwe, era nga talina kimuwaliriza, naye nga yeefuga, n'amalirira obutawasa muwala oyo, wabula okumukuuma nga mwannyina, aba akoze bulungi. Kale oyo awasa omukazi gw'ayogereza aba akoze bulungi, kyokka oyo amukuuma nga mwannyina ye asinga. Omukazi omufumbo taba na ddembe okufumbirwa omusajja omulala nga bba akyali mulamu. Kyokka bba bw'afa, olwo aba wa ddembe okufumbirwa omusajja omulala gw'aba ayagadde, wabula ng'agoberera Mukama ky'ayagala. Kyokka bw'asigala nga bw'ali, lw'asinga okuba n'essanyu. Ekyo kye kirowoozo kyange, era ndowooza nti nange nnina Mwoyo wa Katonda. Kale ebyo ebikwata ku kulya ebiweereddwayo eri ebitali Katonda, kituufu nti “Ffenna tutegeera.” Naye okutegeera kuleeta okwekulumbaza, wabula okwagala kwe kuzimba. Omuntu bw'alowooza nti alina ky'amanyi, aba tannamanya ngeri gy'asaanira kumanyamu. Naye omuntu bw'ayagala Katonda, omuntu oyo amanyibwa Katonda. Naye bwe twogera ku kulyanga ebiweebwayo eri ebyo ebitali Katonda, tumanyi nti ebyo ebitali Katonda, tebiriimu nsa. Tumanyi nti waliwo Katonda omu yekka. Newaakubadde nga waliwo abayitibwa balubaale mu ggulu oba ku nsi, era newaakubadde nga balubaale abo be “Bakama” abangi, naye tulina Katonda omu, Kitaffe eyatonda ebintu byonna, era nga naffe tubeerawo ku bubwe. Era waliwo Mukama omu yekka Yesu Kristo, byonna mwe byatonderwa, atubeesaawo. Kyokka si bonna abamanyi ekyo. Naye abantu abamu baamanyiira ebitali Katonda, era n'okutuusa kaakano bwe balya emmere eyo, balowooza nti y'ebyo ebitali Katonda. Era olw'okuba ng'omwoyo gwabwe munafu, balowooza nti bakoze kibi okulya emmere eyo. Kyokka emmere si y'etufuula abalungi eri Katonda. Era bwe tutalya tetulina kye tufiirwa, ne bwe tulya, tetulina kye tweyongerako. Naye mwegendereze, eddembe lyammwe lireme okufuuka ekyesittaza abanafu. Kubanga ggwe “Amanyi,” singa omuntu omunafu mu mwoyo akulaba ng'otudde mu ssabo olya, ekyo tekirimugumya okulya ebyo ebiweereddwayo eri ebitali Katonda? Kale muganda wo oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, alizikirira olw'okumanya kwo? N'olwekyo bw'okola ekibi ku baganda bo, n'ofumita omwoyo gwabwe omunafu, oba okikoze ku Kristo. Kale oba nga kye ndya kireetera muganda wange okugwa mu kibi, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nneme okuleetera muganda wange okugwa mu kibi. Siri wa ddembe? Siri mutume? Saalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by'omulimu gwe nkolera Mukama? Oba nga siri mutume eri abalala, naye eri mmwe ndi mutume, kubanga mmwe kabonero akakakasa nti Mukama yantuma. Bino bye nnyanukula abo abanvunaana. Tetulina buyinza ku byakulya na byakunywa byaffe? Tetulina buyinza okutambulanga n'omukazi owooluganda, ng'abatume abalala, ne Keefa, ne baganda ba Mukama bwe bakola? Oba nze nzekka ne Barunaba, ffe tusaana okwekolera? Muserikale ki eyali yeesasulidde ebimukolako ng'ali ku lutabaalo? Ani asimba ennimiro y'emizabbibu n'atalya ku bibala byamu? Oba ani alunda ente n'atanywa ku mata gaazo? Ebyo mbyogera ku bwange? Etteeka nalyo si bwe ligamba? Kubanga kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa nti: “Ente togisibanga mumwa ng'ewuula eŋŋaano.” Olowooza nti Katonda ente z'alumirwa? Oba kino akyogera ku lwaffe abantu? Ekyo kyawandiikibwa ku lwaffe, kubanga oyo alima era n'oyo akungula, basaanira okukola omulimu gwabwe nga basuubira okufuna ku bibala. Ffe abaabasigamu ebirungi eby'omwoyo, kiba kinene nnyo bwe tukungula ku byammwe ebigasa omubiri? Oba nga abalala balina obuyinza okubifunako, obuyinza obwo si ffe tusinga okuba nabwo? Naye obuyinza obwo tetubukozesezza, wabula tugumiikiriza byonna, tuleme kuziyiza Mawulire Amalungi aga Kristo. Temumanyi nti abo abaweereza mu Ssinzizo balya ku bya mu Ssinzizo, era nga n'abo abaweereza ku alutaari bagabana ku biweebwayo mu kifo ekyo? Era bw'atyo ne Mukama yalagira nti abo abategeeza abantu Amawulire Amalungi basaana okuliisibwa olw'omulimu ogwo. Naye nze ebyo sibisabye, era bwe mpandiika kino, sigamba nti binkolerwe, kubanga waakiri nfe okusinga omuntu lw'anzigyako ekyo ekinneenyumiririzisa. Bwe ntegeeza abantu Amawulire Amalungi, ekyo tekinneenyumiririzisa, kubanga nteekwa buteekwa okukikola, era ziba zinsanze bwe sitegeeza bantu Amawulire Amalungi. Singa ekyo nkikola lwa kweyagalira, nandibadde nsaanira okuweebwa empeera. Naye nga bwe sikikola lwa kweyagalira, nkikola lwa kuba nga Katonda yankwasa omulimu ogwo. Kale empeera yange y'eruwa? Empeera yange kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga sisasulwa era nga sirina na kimu kye nsaba olw'omulimu ogwo. Newaakubadde nga siri muddu wa muntu n'omu, nafuuka muddu wa bonna, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. Mu Bayudaaya nafuuka ng'Omuyudaaya, ndyoke ndeete Abayudaaya. Mu abo abafugibwa amateeka g'Ekiyudaaya, nafuuka nga bo ndyoke mbaleete. Mu b'amawanga amalala abatalina mateeka ga Kiyudaaya, nafuuka ng'atagalina, ndyoke ndeete abo abatalina mateeka ago. Kino tekitegeeza nti sikwata mateeka ga Katonda, kubanga nfugibwa amateeka ga Kristo. Mu banafu mu kukkiriza nafuuka ng'omunafu, ndyoke mbaleete. Nafuuka byonna eri bonna, ndyoke mbeeko abamu ku bo be ndokola. Ebyo byonna mbikola olw'Amawulire Amalungi, ndyoke ngabane ku birungi ebiva mu go. Temumanyi nti mu mbiro ez'empaka abadduka baba bangi, naye aweebwa ekirabo abeera omu? Kale muddukenga bwe mutyo, mulyoke muweebwe ekirabo. Buli eyeetaba mu mizannyo egy'empaka yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo, balyoke baweebwe engule eyonooneka, naye ffe tuliweebwa engule eteyonooneka. N'olwekyo sidduka ng'atalina kye ŋŋenderera. Nnwana naye siri ng'oyo akuba ebbanga. Mbonereza omubiri gwange era ngufuga, si kulwa nga mmala okutegeeza abalala Amawulire Amalungi, ate nze nzennyini ne sisiimibwa. Abooluganda, njagala mumanye ebyatuuka ku bajjajjaffe. Bonna baakulemberwanga ekire, era bonna baayita mu nnyanja emmyufu. Era bonna ng'abagoberezi ba Musa, baabatizibwa mu kire ne mu nnyanja, era bonna emmere baalyanga ku emu ey'omwoyo. Era bonna baanywanga ekyokunywa kimu eky'omwoyo, kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga, era olwazi olwo yali Kristo. Naye era bangi ku bo, Katonda teyabasiima. Kyebaava bafiira mu ddungu. Ebyo byali bya kutulabula, tulemenga okwegomba ebibi, nga bo bwe baakola. Temusinzanga ebyo ebitali Katonda, ng'abamu ku bo bwe baakola, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu baatuula okulya n'okunywa, ne basituka okuzannya.” Tulemenga okwenda, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, ku lunaku lumu. Tulemenga kukema Mukama, ng'abamu ku bo bwe baamukema, ne bazikirizibwa emisota. Era tulemenga kwemulugunya, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, malayika n'abatta. Ebyo byonna byabatuukako, biryoke bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa olw'okuyigiriza ffe abaliwo ng'enkomerero eneetera okutuuka. Kale oyo alowooza nti ayimiridde, yeegenderezenga aleme okugwa. Ebikemo ebibatuuseeko, by'ebyo ebituuka ku bantu bonna. Katonda mwesigwa, era taabalekenga kutuukibwako bikemo bibayitiridde. Era mu kukemebwa, anaabawanga amaanyi ag'okugumira ebikemo, n'amagezi ag'okubiwangula. N'olwekyo, mikwano gyange, mwewalenga okusinza ebyo ebitali Katonda. Njogera nammwe nga mmanyi nti mutegeera. Kale mulabe kye ŋŋamba. Bwe twebaza Katonda olw'ekikopo ekiweebwa omukisa, tuba tetussa kimu n'omusaayi gwa Kristo? Omugaati guli gumu, era ffe abangi tuli omubiri gumu, kubanga tugabana ku mugaati gumu. Kale mulabe ab'eddiini y'Ekiyudaaya kye bakola: abo abalya ebitambiro eby'oku alutaari, tebeetaba wamu ne Katonda aweerezebwa ebitambiro ebyo? Ddala ŋŋamba nti ekyo ekitali Katonda, oba ekyokulya ekiweebwayo eri ebitali Katonda, biriko kye bigasa? Nedda temuli mugaso. Kye ŋŋamba kye kino nti ebyo abantu b'ensi bye batambira, babitambirira balubaale, sso si Katonda. Naye saagala mmwe mwetabe na balubaale. Temuyinza kunywa ku kikopo kya Mukama, ne ku kikopo kya balubaale. Temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama, ne ku mmeeza ya balubaale. Kale twagala kunyiiza Mukama? Ffe tumusinga amaanyi? Byonna bikkirizibwa, weewaawo, naye si byonna ebigasa. Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebizimba. Walemenga kubaawo afa ku bibye byokka, wabula afenga ne ku by'abalala. Buli ekitundibwa mu katale, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe. Kubanga ensi ne byonna ebigirimu bya Mukama. Atali mukkiriza bw'abayitanga ku kijjulo, ne mukkiriza okugenda, buli kye babaleeteranga okulya, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe. Naye omuntu bw'abagambanga nti: “Kino kyaweereddwayo eri ebitali Katonda,” temukiryanga olw'oyo abagambye, n'olw'obulungi bw'omwoyo. Ŋŋamba lwa bulungi bwa mwoyo gwe, sso si gugwo. Waliwo ayinza okugamba nti: “Lwaki eddembe lyange likugirwa olw'okweraliikirira kw'omuntu omulala? Bwe ndya nga neebazizza Katonda, lwaki nnenyezebwa olw'ekyo kye ndya nga neebazizza?” Kale byonna bye munaakolanga, oba kulya oba kunywa, mubikolenga nga mugendereramu kitiibwa kya Katonda. Temwesittazanga Bayudaaya, newaakubadde Abayonaani, wadde ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo. Mube nga nze agezaako okusanyusa bonna mu buli kye nkola, nga sifa ku bulungi bwange nzekka, wabula ku bwa bangi, balyoke balokolebwe. Mulabire ku nze, nga nze bwe ndabira ku Kristo. Mbatendereza olw'okunjijukira mu byonna n'olw'okugoberera byonna nga bwe nabayigiriza. Naye njagala mutegeere nti Kristo ye akulira buli muntu, era nti omusajja ye akulira mukazi we, era nti Katonda ye akulira Kristo. Kale omusajja bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, n'abikka omutwe gwe, aswaza Kristo, Mukama we. Kyokka omukazi bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, nga tabisse mutwe gwe, aswaza bba; kubanga omukazi oyo aba ng'amwereddwako enviiri. Kale omukazi bw'atabikka ku mutwe gwe, asalengako enviiri ze. Naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalako enviiri ze, oba okumwebwa omutwe, kale ateekwa okubikkanga ku mutwe gwe. Omusajja ye tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye alaga ekifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda. Kyokka omukazi ye alaga ekitiibwa ky'omusajja, kubanga omusajja si ye yatondebwa ng'aggyibwa mu mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja. Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw'omusajja. Kale olwa bamalayika, omukazi asaanye okubangako akabonero ku mutwe gwe, akalaga nti afugibwa. Newaakubadde nga kiri bwe kityo, naye mu Mukama, omukazi tabaawo awatali musajja, n'omusajja tabaawo awatali mukazi, kubanga ng'omukazi bwe yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja, n'omusajja azaalibwa mukazi; naye byonna biva wa Katonda. Nammwe mwennyini mulabe: kisaana omukazi okwegayirira Katonda nga tabisse ku mutwe gwe? Embeera y'abantu tebayigiriza nti omusajja okukuza enviiri kimuswaza, naye ng'omukazi okuba n'enviiri empanvu kiba kya kitiibwa? Kubanga enviiri ze zaamuweebwa lwa kumubikka. Naye bwe wabaawo ayagala okuleeta empaka ku bino, ategeere nti ffe, wadde ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo tetulinaayo kirala. Mu kino kye mbakubiriza, sibatendereza, kubanga bwe mukuŋŋaana, ebivaamu tebiba birungi, wabula biba bibi. Ekisookera ddala, bantegeeza nti bwe mukuŋŋaana mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, mwawukanayawukanamu, era ekyo ku ludda olumu nzikiriza nti bwe kiri, kubanga era okwesalaasalamu kuteekwa okubaawo, ab'amazima mu mmwe balyoke bamanyibwe. Bwe mukuŋŋaana, ekyo kye mulya tekikyali kya kiro kya Mukama waffe, kubanga bwe muba mulya, buli omu alya mmere ye, n'atalinda banne. Abamu baba bakyali bayala, abalala nga batamidde. Kale temulina maka ga kuliirangamu na kunywerangamu? Oba munyooma ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, ne muswaza abo abatalina kantu? Mbagambe ki? Mbatendereze olw'ekyo? Nedda, sibatendereza. Mukama ye yampa ekyo kye nabayigiriza mmwe nti: Mukama Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yakwata omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agamba nti: “Kino gwe mubiri gwange, oguliwo ku lwammwe. Kino mukikolenga olw'okunjijukira.” Era bw'atyo bwe yakola ne ku kikopo. Bwe baamala okulya, n'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda, n'ekakasibwa n'omusaayi gwange. Buli lwe munaakinywangako, mukinywengako olw'okunjijukira.” Buli lwe munaalyanga ku mugaati guno, era buli lwe munaanywanga ku kikopo kino, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama, okutuusa lw'alijja. N'olwekyo buli alya ku mugaati guno, oba anywa ku kikopo kya Mukama nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri ne ku musaayi gwa Mukama. Kale nno omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati era anywe ku kikopo, kubanga buli alya era anywa nga tasaanidde, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga, kubanga aba tategedde makulu ga mubiri gwa Mukama. Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu bangi abalwadde n'abanafu, era bangi bafudde. Naye singa tusooka okwekebera, Katonda teyanditusalidde musango. Naye Mukama bw'atusalira omusango, atukangavvula, tuleme okusingibwa omusango awamu n'ensi. Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, mulindenga bannammwe. Era singa wabaawo alumwa enjala, amalenga okulya ng'akyali eka, okukuŋŋaana kwammwe kuleme okunenyezebwanga. Ebirala, ndibitereeza nga nzize. Abooluganda, njagala mutegeere ebifa ku birabo ebigasa omwoyo. Mumanyi nti bwe mwali mukyali bantu ab'ensi, mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebyo ebitali Katonda, era ebitayogera. Kyenva njagala mutegeere nti tewali muntu n'omu, Mwoyo wa Katonda gw'ayogeza, n'agamba nti: “Yesu avumirirwe!” Era tewali n'omu agamba nti: “Yesu ye Mukama,” wabula nga Mwoyo Mutuukirivu ye akimwogezezza. Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba ye omu. Waliwo engeri nnyingi ez'okuweerezaamu, naye Mukama aweerezebwa ye omu. Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi, kyokka Katonda ye omu asobozesa bonna mu buli kye bakola. Mwoyo alabikira mu buli omu olw'okugasa bonna. Omu, Mwoyo amuwa okwogera eby'amagezi, omulala, Mwoyo ye omu n'amuwa okutegeera. Omulala, Mwoyo ye omu amuwa okukkiriza, n'omulala n'amuwa obuyinza obw'okuwonya abalwadde. Omu, Mwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n'omulala n'amuwa okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda; ate omulala n'amuwa okumanya emyoyo emirungi n'emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi, n'omulala n'amuwa okuzivvuunula. Naye Mwoyo akola ebyo byonna ye omu, ye agabira bonna nga bw'ayagala. Kristo afaanaanyirizibwa n'omubiri. Newaakubadde nga gulina ebitundu bingi, naye gusigala nga guli gumu. Bwe tutyo naffe ffenna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, abaddu n'ab'eddembe, twabatizibwa Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, era ffenna twafuna Mwoyo omu. Omubiri teguba na kitundu kimu, naye guba n'ebitundu bingi. Singa ekigere kigamba nti: “Siri mukono, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikiggyaako kubeera kitundu kya mubiri. Era singa okutu kugamba nti: “Siri liiso, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikuggyaako kubeera kitundu kya mubiri. Singa omubiri gwonna gwali liiso, okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, okuwunyiriza kwandibadde wa? Naye kaakano Katonda yateeka mu mubiri ebitundu ebyenjawulo, nga bwe yayagala. Singa byonna byali ekitundu kimu, olwo omubiri gwandibadde wa? Naye kaakano ebitundu bingi, naye omubiri guli gumu. Eriiso teriyinza kugamba mukono nti: “Ggwe sikwetaaga,” wadde omutwe okugamba ebigere nti: “Mmwe sibeetaaga.” Naye mu mazima, ebitundu by'omubiri ebirabika ng'ebisinga obunafu, bye bisinga okwetaagibwa. Era ebitundu ebyo eby'omubiri bye tulowooza okuba ebinyoomebwa, bye tusinga okwambaza ekitiibwa, n'ebyo ebitalabika bulungi, bye tusinga okuwa ekitiibwa ekingi, ebitundu byaffe ebisinga obulungi kye biteetaaga. Bw'atyo Katonda bwe yatereeza omubiri, ebitundu ebinyoomebwa n'abiwa ekitiibwa ekisinga obunene, omubiri guleme kwesalaasalamu, wabula ebitundu byagwo bikolaganirenga wamu. Ekitundu ekimu bwe kirumwa, n'ebirala byonna birumirwa wamu nakyo. Era ekitundu ekimu bwe kiweebwa ekitiibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo. Kale mwenna muli mubiri gwa Kristo, era buli omu mu mmwe kitundu kyagwo. Era mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda yateekamu abantu: abasooka be batume, abaddako be balanzi, ne kuddako abayigiriza, ne kuddako abakozi b'ebyamagero, abawonya abalwadde, abayambi b'abantu, abafuzi, era n'aboogera ennimi. Bonna batume? Bonna balanzi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? Bonna balina ebirabo eby'okuwonya abalwadde? Bonna boogera ennimi? Bonna bavvuunula ennimi? Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era ka mbalage ekkubo erisingira ddala obulungi. Ne bwe njogera ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye ne siba na kwagala, mba ng'ekide ekimala gavuga, oba ng'ebirebe ebikubagana. Ne bwe mba n'ekirabo eky'obulanzi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye ne siba na kwagala, mba siriiko kye ngasa. Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuliisa abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne gwokebwa, naye nga sirina kwagala, sibaako kye ngasiddwa. Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa. Okwagala tekuba na buggya. Okwagala tekwenyumiikiriza era okwagala tekwekulumbaza. Tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo byokka, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. Okwagala tekusanyukira butali bwenkanya, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, era kugumiikiriza byonna. Ne bwe wabaawo obulanzi, bulivaawo. Ne bwe wabaawo ekirabo eky'okwogera ennimi, kirikoma. Ne bwe wabaawo amagezi, galiggwaawo. Naye okwagala tekuggwaawo. Okumanya kwaffe kwa kitundu, n'obulanzi bwaffe nabwo bwa kitundu. Naye ebituukiridde bwe birijja, eby'ekitundu biriggwaawo. Bwe nali nkyali muto, nayogeranga ng'omuto. Naye bwe nakula, ne ndeka eby'obuto. Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng'abeerabira mu ndabirwamu eteraba bulungi. Naye luli tulirabira ddala bulungi. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu. Naye luli ndimanyira ddala byonna, nga kaakano Katonda bw'ammanyidde ddala. Naye kaakano ebiriwo biri bisatu: okukkiriza, okusuubira, era n'okwagala. Naye ekisinga obukulu, kwe kwagala. Kale muluubirirenga okwagalana, era mwegombenga ebirabo ebigasa omwoyo, na ddala ekirabo eky'okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda. Kubanga ayogera ennimi, tayogera na bantu, wabula ayogera na Katonda, kubanga by'ayogera, tewali abitegeera. Ebyama by'ayogera Mwoyo ye abimwogeza. Kyokka oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, abategeeza ebibazimba, ebibakubiriza era ebibagumya. Oyo ayogera ennimi, yeegasa yekka. Naye oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, agasa ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo. Nandyagadde mwenna mwogere ennimi. Naye ekisingira ddala, nandyagadde mwenna mutuuse ku bantu obubaka bwa Katonda, kubanga oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, agasa nnyo okusinga oyo ayogera ennimi, okuggyako mpozzi nga waliwo avvuunula, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kiryoke kiganyulwe. Kale abooluganda, bwe njija gye muli ne njogera ennimi, mbagasa ki nga sibategeezezza ebyo Katonda by'andaze, oba bye mmanyi, oba bye nnanga, oba bye njigiriza? Era n'ebivuga, ebitalina bulamu, ng'endere oba ennanga, bwe bitavuga maloboozi gategeerekeka, omuntu amanya atya ekifuuyibwa oba ekikubibwa? Era singa eŋŋombe tevaamu ddoboozi litegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo? Ne ku mmwe bwe kiri. Bwe mwogera mu lulimi olutategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera ebyogeddwa? Muba mwogeredde bwereere. Kya mazima waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era tewali na lumu lutalina makulu. Naye bwe mba nga simanyi bigambo kye bitegeeza, mba ng'omugwira eri oyo ayogera, era naye aba ng'omugwira gye ndi. Bwe mutyo nammwe, nga bwe mwegomba okufuna ebirabo ebigasa omwoyo, mufubenga nnyo, mulyoke muzimbe ekibiina ky'abakkiriza Kristo. N'olwekyo ayogera olulimi lw'atamanyi, asabe Katonda, amuwenga okuluvvuunula, kubanga bwe nsinza Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omutima gwange gusinza, naye amagezi gange tegabaako kye gakola. Kale nkole ki? Bwe nsinza Katonda, njagala omutima gwange era n'amagezi gange bisinze. Bwe nnyimba, njagala omutima gwange era n'amagezi gange biyimbe. Kale bwe kitaba bwe kityo, bwe weebaza Katonda mu lulimi olutategeerekeka, omuntu atategeera ky'ogamba asobola atya okuddamu nti “Amiina,” ng'omalirizza okwebaza? Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza bulungi nnyo Katonda, naye omulala taganyulwa. Neebaza Katonda, kubanga mwenna nze mbasinga okwogera ennimi. Naye mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, njagala njogere n'amagezi gange ebigambo bitaano ebitegeerekeka, ndyoke njigirize abalala, okusinga lwe njogera ebigambo olukunkumuli, mu lulimi olutategeerekeka. Abooluganda, temulowoozanga ng'abaana abato. Naye mu bye mukola, mube ng'abaana abato abatalina musango, wabula mube bakulu mu kulowooza. Mu Kitabo Ekitukuvu kyawandiikibwa nti: “Ndyogera n'abantu bano, nga njogeza abantu ab'ennimi endala, n'emimwa gy'ab'amawanga amalala, naye era abantu bange tebalimpuliriza. Ekyo Mukama ky'agamba.” N'olwekyo, ennimi tezireetebwa lw'abo abalina okukkiriza, wabula lw'abo abatalina kukkiriza. Naye okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, kuliwo lw'abo abalina okukkiriza, sso si lw'abo abatalina kukkiriza. Kale singa ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo kikuŋŋaana, ne mwogera ennimi, ab'ebweru, oba abo abatalina kukkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse? Naye singa bonna batuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, atalina kukkiriza oba ow'ebweru n'ayingira, ebyo ebyogerwa bonna, bijja kumuleetera okulumwa olw'ebibi bye, yeesalire omusango, ebyo by'alowooza mu mutima gwe bibikkulwe, afukamire asinze Katonda, nga bw'agamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.” Kale abooluganda, bibe bitya? Bwe mukuŋŋaana, omu aba n'oluyimba, omulala aba n'eky'okuyigiriza, omulala aba n'ekyo Katonda ky'amulaze, omulala okwogera ennimi, n'omulala okuvvuunula. Ebyo byonna bikolebwenga olw'okwezimba. Singa wabaawo aboogera ennimi, abangi bandibadde babiri; bwe basingawo, tebandisusse ku basatu. Era buli omu ayogerenga mu luwalo lwe, nga waliwo n'omulala avvuunula. Naye bwe wataba avvuunula, olwo ayogera ennimi asirikenga busirisi ng'ali mu lukuŋŋaana, wabula ayogerenga yekka ne Katonda. Kyokka abatuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, boogerenga babiri oba basatu, ng'abalala bageraageranya ebyogeddwa. Naye singa omu ku batudde ajjirwa ekigambo kya Katonda, oli abadde ayogera asirikenga, kubanga mwenna, mu mpalo, muyinza okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, bonna balyoke bayige, era bonna bongerwemu amaanyi. Abo abafuna ekirabo eky'okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, basobola okwefuga, kubanga Katonda taleeta kutabukatabuka, wabula aleeta mirembe. Nga bwe kiri mu bibiina byonna eby'abantu ba Katonda abakkiriza Kristo, abakazi basirikenga busirisi nga mukuŋŋaanye, kubanga tebakkirizibwa kwogeranga, wabula okusirikanga, ng'amateeka g'Ekiyudaaya bwe galagira. Bwe banaabangako ne kye baagala okumanya, bakibuuzenga babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogerera mu lukuŋŋaana lw'abantu. Kale mulowooza nti ekigambo kya Katonda kyava mu mmwe, oba nti kyatuuka ku mmwe mwekka? Bwe wabeerawo omuntu eyeerowooza nti atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, oba nti afugibwa mwoyo, ategeere nti bye mbawandiikira mmwe, kye kiragiro kya Mukama. Bwe wabaawo atafa ku kino, naye aleme kufiibwako. Kale baganda bange, mwegombenga nnyo okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, naye temuziyizanga kwogera nnimi. Naye byonna bikolebwenga bulungi era mu butebenkevu. Abooluganda, mbajjukiza Amawulire Amalungi ge nabategeeza ne mugakkiriza era mwe munyweredde, era ag'okubalokola bwe munaagakuumira ddala nga bwe nagabategeeza. Bwe kitaba bwe kityo, mpozzi nga mwakkiririza bwereere. Nabatuusaako ekigambo ekikulu, nange kye naweebwa, ekigamba nti Kristo yafa olw'ebibi byaffe, ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba, era nti yaziikibwa, n'azuukira ku lunaku olwokusatu ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba; era nti yalabikira Keefa, ate n'alabikira abatume ekkumi n'ababiri; n'oluvannyuma n'alabikira baganda baffe abasukka mu bikumi ebitaano, bonna nga bali wamu. Abasinga obungi ku bo bakyali balamu, newaakubadde nga abamu baafa. Awo n'alabikira Yakobo, n'oluvannyuma n'alabikira abatume bonna. Bwe yamala okulabikira abo bonna, n'alyoka alabikira nange, newaakubadde nga ndi ng'omwana omusowole, kubanga nze nsembayo mu batume. Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo. Naye olw'ekisa kya Katonda, kyenva mbeera nga bwe ndi kaakano, era ekisa kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Nakola nnyo okusinga abatume abalala bonna, naye si nze nakola, wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. Oba yali nze oba bo, bwe tutyo bwe tutegeeza abantu, era bwe mutyo bwe mwakkiriza. Kale oba nga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukira, lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira? Kale oba nga tewali kuzuukira, ne Kristo teyazuukira. Era oba nga Kristo teyazuukira, bye twabategeeza tebiriiko kye bigasa, era n'okukkiriza kwammwe tekugasa. Ate era tuba ng'abaayogera eby'obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo, gw'ataazuukiza, bwe kiba nga ddala abafu tebazuukira. Kale oba nga abafu tebazuukira, ne Kristo teyazuukira. Oba nga Kristo teyazuukira, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa, era mukyali mu bibi byammwe. Era n'abo abaafa nga bakkiriza Kristo, baazikirira. Oba nga Kristo tumusuubiramu bya bulamu buno bwokka, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna. Naye kya mazima Kristo yazuukira. Ekyo kye kikakasa nti n'abo abaafa balizuukira. Kuba ng'okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n'okuzuukira kwaleetebwa muntu. Kuba ng'abantu bonna bwe bafa olw'Adamu, era bwe batyo bonna balifuuka balamu olwa Kristo, kyokka buli omu mu luwalo lwe. Kristo ye yasooka, era bw'alijja, ababe ne baddako, olwo enkomerero n'eryoka etuuka. Kristo ng'amaze okuggyawo obufuzi bwonna, n'obuyinza bwonna era n'amaanyi gonna, n'akwasa Katonda Kitaawe Obwakabaka, kubanga Kristo ateekwa okufuga okutuusa lw'alirinnyirira abalabe be bonna. Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa, ye Kufa, kubanga kyawandiikibwa nti: “Katonda yamuwa okufuga ebintu byonna.” Naye bwe kyogera ku bintu byonna, tekitwaliramu Katonda, eyawa Kristo okufuga ebintu byonna. Ebintu byonna bwe birimala okussibwa mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Mwana, n'alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n'alyoka afugira ddala byonna. Oba ng'abafu tebazuukira, abo ababatizibwa ku lw'abafu bagenderera ki? Kale lwaki babatizibwa ku lw'abafu? Era ffe lwaki tweteeka mu kabi buli kaseera? Abooluganda, olw'okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nsanyukiramu mu Kristo Yesu Mukama waffe, nnyinza okukakasa nti nfa buli lunaku. Kale oba nga nalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, kingasa ki? Oba ng'abafu tebazuukira, “Kale tulye tunywe, kubanga enkya tujja kufa.” Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” Mweddemu, mulekere awo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi. Naye omuntu ayinza okubuuza nti: “Abafu bazuukira batya?” Era nti: “Mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo?” Musirusiru ggwe! Ensigo gy'osiga temeruka nga tennafa. Era eyo gy'osiga eba mpeke buweke: oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala, sso tekiba kimera nga bwe kiriba nga kimaze okukula. Naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo, kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo ogw'abantu, waliwo ogw'ensolo, waliwo ogw'ennyonyi, era waliwo n'ogw'ebyennyanja. Waliwo emibiri egy'omu ggulu, n'emibiri egy'omu nsi. Naye ekitiibwa ky'egy'omu ggulu kirala, era n'eky'egy'omu nsi kirala. Waliwo ekitiibwa eky'enjuba, waliwo ekitiibwa eky'omwezi, era waliwo ekitiibwa eky'emmunyeenye. Naye n'emmunyeenye tezenkanankana kwaka. Era bwe kiri ne mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, naye guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye guzuukizibwa nga gwa kitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga guli ng'omwoyo. Oba nga waliwo omubiri obubiri, era waliwo n'omubiri oguli ng'omwoyo. Era bwe kityo kyawandiikibwa nti “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng'alina obulamu.” Kyokka Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu. Naye eky'omwoyo si kye kyasooka, wabula eky'omubiri obubiri, n'oluvannyuma eky'omwoyo ne kijja. Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Omuntu owookubiri yava mu ggulu. Ng'eyakolebwa mu nfuufu bw'ali, n'abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. Era ng'eyava mu ggulu bw'ali, n'abo ab'omu ggulu bwe bali. Nga bwe twawumbibwa ne tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tuliwumbibwa ne tufaanana oyo eyava mu ggulu. Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri n'omusaayi tebiyinza kufuna Bwakabaka bwa Katonda, n'okuvunda tekusikira butavunda. Ka mbabuulire ekyama: si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey'enkomerero bw'erivuga, ffenna tulifuukira mu kaseera katono, ng'ak'okutemya n'okuzibula, kubanga eŋŋombe erivuga, n'abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa, era ffenna tulifuuka. Kubanga omubiri guno oguvunda, gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri ogufa, gwa kufuuka ogutafa. Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, n'ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira, ekigamba nti: “Ggwe Kufa, obuwanguzi bwo buluwa? Ggwe Kufa, obuyinza bwo obulumya buluwa?” Obuyinza bw'Okufa obulumya buva mu kibi, n'amaanyi g'ekibi gava mu mateeka. Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku lwa Mukama waffe Yesu Kristo. N'olwekyo baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu, era abatasagaasagana, mweyongerenga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe nga mukolera Mukama waffe, si kwa kufa bwereere. Kale ebyo ebikwata ku kukuŋŋaanya eby'okuyamba abantu ba Katonda, nammwe mukole nga bwe nalagira ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Galatiya. Ku buli lunaku olusooka mu wiiki, buli omu mu mmwe abeeko ky'atereka, okusinziira ku nfuna ye, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. Bwe ndituuka, abo be musiima be ndituma, ne bagenda n'ebbaluwa, ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemu. Bwe kirirabika nti kisaanye nange ŋŋende, baligenda nange. Ndijja gye muli nga mmaze okuyita e Makedooniya, kubanga e Makedooniya gye ndiyita. Era osanga ndibeera nammwe, mpozzi n'okumalirako ddala n'ebiro eby'obutiti, mulyoke munnyambe okwongera olugendo lwange buli gye ndigenda. Kaakano ssaagala kubalaba nga mpita buyisi, nsuubira okumala nammwe ebbanga eriwerako, Mukama bw'alisiima. Kyokka ndisigala mu Efeso okutuusa ku Pentekoote, kubanga nfunye omukisa munene okukolayo omulimu ogw'omugaso, newaakubadde ng'eriyo abalabe bangi. Timoteewo bw'alijja, mulabe nti tabaako ky'atya ng'ali mu mmwe, kubanga akola omulimu gwa Mukama nga nze. N'olwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe, olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi, kubanga nze n'abooluganda tumulindiridde. Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apollo, namwegayirira nnyo ajje gye muli ng'ali n'abooluganda abalala, kyokka ye n'atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng'afunye ebbanga. Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ba maanyi. Byonna bye mukola, mubikozesenga kwagala. Abooluganda, mumanyi nti ab'ennyumba ya Siteefano be baasooka okukyuka mu Asiya, era beewaayo okuweereza abantu ba Katonda. Mbeegayirira muwulirenga abantu ng'abo, era na buli omu afuba okukolera awamu nabo. Siteefano ne Forutunaato ne Akayiko bwe bajja, nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. Era bansanyusa era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng'abo mubassengamu ekitiibwa. Ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Asiya bibalamusizza. Akwila ne Priska, awamu n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu maka gaabwe, babalamusizza nnyo mu Mukama. Abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana. Nze Pawulo mbaweerezza okulamusa kuno, kwe mpandiise n'omukono gwange gwennyini. Oba nga waliwo atayagala Mukama, avumirirwe. Mukama ajja. Mukama waffe Yesu abakwatirwenga ekisa. Mwenna mbaagala mu Kristo Yesu. Amiina. Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, era n'owooluganda Timoteewo, tuwandiikira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, ekiri mu Korinto, era n'abantu ba Katonda bonna ab'omu Akaya yonna. Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, babakwatirwe ekisa era babawe emirembe. Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo era Kitaffe, ajjudde okusaasira, era Katonda asanyusa bonna, atenderezebwenga. Ye oyo atusanyusa mu buzibu bwaffe bwonna, naffe tulyoke tusobole okusanyusanga abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri, nga tubasanyusa n'ebyo ffe ffennyini bye tufunye okuva eri Katonda. Kuba nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo okungi, era bwe tutyo bwe tusanyukira mu Kristo. Bwe tubonyaabonyezebwa, tubonaabona, mmwe mulyoke mufune essanyu, era mulokolebwe. Era bwe tusanyuka, nammwe musanyuka, ne mufuna amaanyi okuyita mu bizibu ng'ebyaffe bye tuyitamu, nga muli bagumiikiriza. Tubalinamu nnyo essuubi, kubanga tumanyi nti nga bwe mubonaabonera awamu naffe, era muligabana ku ssanyu lyaffe. Abooluganda, twagala mumanye okubonyaabonyezebwa okwatutuukako nga tuli mu Asiya. Twabonyaabonyezebwa nnyo ekiyitiridde, n'essuubi ery'okuba abalamu ne lituggwaamu. Twalowooleza ddala nti tusaliddwa gwa kufa. Ekyo kyatutuukako, tuleme kwesiga maanyi gaffe, wabula twesige Katonda yekka azuukiza abafu. Katonda oyo ye yatuwonya mu kabi akanene bwe katyo ak'okufa, era ye alituwonya, era gwe tulinamu essuubi ery'okutuwonyanga. Nammwe mutuyambe nga mutusabira, bangi balyoke beebaze Katonda ku lwaffe, olw'emikisa egituweereddwa olw'okusaba kw'abangi. Ekituleetera okwenyumiriza kye kino nti emmeeme etukakasa nti mu nsi muno, n'okusingira ddala mu mmwe, tubadde ba mpisa nnungi, si lwa magezi ga bantu, naye kubanga ekisa kya Katonda kye kitufuula ab'amazima era abatuukirivu. Tubawandiikira ebyo byokka bye musobola okusoma era n'okutegeera. Era nsuubira nti mulitegeerera ddala ekyo kaakano kye mutegeerako ekitundu, mulyoke mwenyumirize ku lwaffe, nga ffe bwe tulyenyumiriza ku lwammwe, ku lunaku lwa Mukama Yesu. Olw'okwekakasa mu ekyo, nayagala nsooke kukyalira mmwe, mulyoke mufune omukisa gwa mirundi ebiri. Nayagala mbakyalire nga ŋŋenda e Makedooniya, era nkomewo gye muli nga nva e Makedooniya, mulyoke munnyambe nga ŋŋenda e Buyudaaya. Bwe nayagala okukola ekyo, mulowooza nti nali munnanfuusi? Bye nkola mbikola ng'omuntu ow'ensi, agamba nti: “Weewaawo,” ate mu kaseera ke kamu n'agamba nti: “Nedda”? Nga Katonda bw'ali omwesigwa, tetubagambangako nti: “Weewaawo,” ate ne tukyusa nti: “Nedda.” Yesu Kristo, Omwana wa Katonda eyabategeezebwa Siluvaano ne Timoteewo era nange, teyali nti: “Weewaawo,” ate nti “Nedda,” wabula mu ye bulijjo mulimu “Weewaawo,” kubanga mu Kristo, byonna Katonda bye yasuubiza, mwe bituukiririra. Ku bwa Kristo, kyetuva tugamba nti: “Amiina,” nga tuwa Katonda ekitiibwa. Ffe nammwe, Katonda yatukakasa nti mu Kristo mwe tufunira obulamu, era Katonda yennyini yatufukako omuzigo, n'atuteekako akabonero ke, bwe yatuwa Mwoyo we mu mitima gyaffe, abe omusingo gw'ebyo by'atuterekedde. Katonda ye mujulirwa wange nti olw'okubasaasira mmwe, kyennava sijja Korinto. Tetubalagira bulagizi kye muteekwa okukkiriza, wabula tukolera wamu nammwe, mulyoke musanyuke, kubanga muli banywevu mu kukkiriza. N'olwekyo namalirira obutakomawo eyo, nneme kuddamu kubanakuwaza. Nze bwe mbanakuwaza, ani anansanyusa? Si mmwe be nnakuwaza? Kyennava mbawandiikira, bwe ndijja, nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza. Nkakasa nti bwe nsanyuka, era nammwe musanyuka. Nabawandiikira nga ndi mu kubonaabona kungi, nga n'omutima gujjudde obulumi, era nga nkaaba amaziga mangi. Mu kubawandiikira, saagenderera kubanakuwaza, wabula nayagala kubalaga nga bwe mbaagala ennyo. Bwe wabaawo eyaleetera munne okunakuwala, teyakuleetera nze, wabula ku ludda olumu, bwe mba siyitirizza, yakuleetera mmwe mwenna. Omuntu ng'oyo, ekibonerezo ekyo ky'aweereddwa abangi, kimala. N'olwekyo musaanidde okumusonyiwa, n'okumugumya, aleme okunakuwala ekiyitiridde, n'okuterebukira ddala. Kyenva mbeegayirira, mumulage nti mumwagala. Era kyennava mbawandiikira, ndabe nga muli bawulize mu byonna. Buli gwe musonyiwa, nange mmusonyiwa. Nange kye nasonyiwa, oba nga weekiri, nakisonyiwa ku lwammwe, mu maaso ga Kristo, Sitaani aleme kutuzingiza, kubanga tumanyi enkwe ze. Bwe natuuka mu Turoowa okutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo, newaakubadde nasanga nga Mukama anziguliddewo oluggi, omutima gwange tegwatereera, kubanga saasangayo muganda wange Tito. Kyennava nsiibula abantu baayo, ne ŋŋenda e Makedooniya. Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza bulijjo olwa Kristo. Katonda ye atukozesa okumanyisa Kristo mu bantu bonna, era Amawulire Amalungi gali ng'akawoowo akasaasaanira wonna. Tuli kawoowo ka Kristo, k'aweereza eri Katonda, akatuuka ku abo abalokolebwa, ne ku abo abazikirira. Mu abo abazikirira, tuli kivundu kya lumbe ekireeta okufa. Naye mu abo abalokolebwa, tuli kawoowo ka bulamu, akaleeta obulamu. Kale ebyo ani abisobola? Tetuli ng'abangi abo abakozesa ekigambo kya Katonda olw'okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe, kubanga twatumibwa Katonda, twogera nga tetuliimu bukuusa mu maaso ga Katonda, nga tuli mu Kristo. Mulowooza nti tutandise ate okwetenda? Oba mulowooza nti twetaaga ebbaluwa ng'abalala, ezitusemba gye muli, oba mmwe ze muwandiise nga zitusemba? Mmwe mwennyini, mmwe bbaluwa yaffe etusemba, ewandiikiddwa ku mitima gyaffe, emanyibwa era esomebwa abantu bonna. Bonna babalaba nti muli bbaluwa eyava eri Kristo, gye twaleeta. Ebbaluwa eyo, teyawandiikibwa na bwino, wabula yawandiikibwa na Mwoyo wa Katonda Nnannyinibulamu. Era teyawandiikibwa ku bipande bya mayinja, wabula yawandiikibwa ku bipande eby'emitima gy'abantu. Obwo bwe bwesige bwe tulina mu Katonda, nga tuyita mu Kristo. Tetugamba nti twemalirira, oba nti tulina kye tukola ku bwaffe, wabula amaanyi gaffe gava eri Katonda. Ye yatusaanyiza okuba abaweereza b'endagaano empya, eteri ya mateeka mawandiike, naye eya Mwoyo. Amateeka amawandiike galeeta kufa, naye Mwoyo aleeta bulamu. Naye oba nga Amateeka agaleeta okufa, agaayolebwa mu nnukuta ku bipande eby'amayinja, gaaweebwa mu kitiibwa ekinene, Abayisirayeli ne batayinza na kutunuulira Musa mu maaso olw'okwakaayakana kwago, okwali okw'okuggwaawo, kale Mwoyo Mutuukirivu taliweebwa mu kitiibwa kinene okusingawo? Oba nga okuweebwa ekyo ekisingisa abantu omusango kwa kitiibwa, okuweebwa ekyo ekireetera abantu obutuukirivu kwa kitiibwa nnyo okusingawo. N'olwekyo, ekyo ekyali kirina ekitiibwa luli, kaakano tekikyakirina, kubanga kyamalibwawo ekitiibwa ekisingirawo ddala. Kuba oba nga ekyo ekiggwaawo kyalina ekitiibwa, ekyo eky'olubeerera kiteekwa okuba n'ekitiibwa ekisingawo. N'olwekyo nga bwe tulina essuubi eryo eryenkana awo, tuli bagumu nnyo. Tetuli nga Musa eyeebikkanga ekitambaala ku maaso, Abayisirayeli baleme kulaba kwakaayakana kw'amaaso ge bwe kuggwaawo. Emitima gyabwe gyaguba n'okutuusiza ddala kaakano. Bwe basoma endagaano enkadde, ekibikka ekyo kyennyini tekibaggyibwangako. Ekibikka ekyo kiggyibwa ku abo abeegatta ne Kristo. Ddala n'okutuusiza ddala kaakano, ebyawandiikibwa Musa buli lwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikkiddwako. Naye omuntu bw'akyuka n'adda eri Mukama, ekibikka kiggwaawo. Mukama ye Mwoyo, era Mwoyo wa Mukama w'abeera, we waba eddembe. N'olwekyo ffe ffenna bwe tuggyibwako ekibikka ku maaso, ekitiibwa kya Mukama kirabikira mu ffe, nga bwe kyandirabikidde mu ndabirwamu. Ekitiibwa ekyo ekiva eri Mukama, ye Mwoyo, kitufuula ne tufaanana nga ye, mu kitiibwa ekigenda nga kyeyongera. N'olwekyo Katonda nga bwe yatusaasira, n'atuwa omulimu ogwo ogw'obuweereza, tetuterebuka. Twaleka ebyo ebikolebwa mu nkukutu eby'ensonyi, n'empisa ez'obukuusa, era tetukyamya kigambo kya Katonda, wabula tulaga amazima nga bwe gali, ne tuleka buli muntu ow'omutima omulungi atulowoozeeko nga bw'alaba mu maaso ga Katonda. Era oba ng'Amawulire Amalungi ge tutegeeza abantu, makweke, abo ab'okuzikirira be gakwekeddwa. Be bo abatakkiriza, Sitaani omufuzi w'ensi eno be yaziba emitima, n'abaziyiza okukkiriza era n'okulaba ekitangaala ky'Amawulire Amalungi ag'ekitiibwa kya Kristo, alabirwamu ekifaananyi kya Katonda. Ffe tetweyogerako, wabula tutegeeza abantu nti Kristo Yesu ye Mukama, era nti tuli baweereza bammwe olwa Kristo. Katonda eyalagira ekitangaala kyake awabadde ekizikiza, ye yayaka mu mitima gyaffe okuleetera abantu ekitangaala, bamanye ekitiibwa kya Katonda, ekirabikira mu Kristo. Naye ffe abali ng'ebibya eby'ebbumba, ffe tulimu ekyo eky'omuwendo ennyo, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, sso si bwaffe. Tubonaabona mu buli ngeri, naye tetubulwa bwekyusizo. Tusoberwa, naye tetuggwaamu ssuubi. Tuyigganyizibwa, naye tetwabulirwa. Tumeggebwa, naye tetubetentebwa. Bulijjo buli we tulaga, tugenda n'okufa kwa Yesu mu mibiri gyaffe, obulamu bwe bulyoke bulabikire mu mibiri gyaffe. Newaakubadde nga tuli balamu, naye bulijjo tuba mu kabi ak'okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabikire mu mibiri gyaffe egy'okufa. N'olwekyo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe. Nga bwe tulina omutima ogw'okukkiriza ng'ogw'oyo eyawandiika nti: “Nakkiriza, kyennava njogera,” naffe tukkiriza, era kyetuva twogera nga tumanyi nti oyo eyazuukiza Mukama Yesu, naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, n'atuleeta wamu nammwe mu maaso ge. Byonna biriwo ku lwammwe, ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere okubuna mu bantu, nabo beeyongere okwebaza Katonda, n'okumuweesa ekitiibwa. Newaakubadde ng'obulamu bwaffe obw'omubiri bugenda buseebengerera, naye obulamu bwaffe obw'omwoyo bufuulibwa buggya buli lunaku, kyetuva tulema okuddirira. Okubonaabona kuno okutono era okw'akaseera obuseera, kututeekerateekera ekitiibwa ekinene ekitaliggwaawo, era ekitageraageranyizika. Amaaso gaffe tetugatadde ku ebyo ebirabika, wabula ku ebyo ebitalabika. Ebyo ebirabika bya kaseera buseera, naye ebyo ebitalabika, bya lubeerera. Tumanyi nti ensiisira yaffe ey'oku nsi, gwe mubiri gwe tulimu, bw'eryabizibwa, Katonda alituwa ennyumba mu ggulu ey'olubeerera, etaazimbibwa bantu. Kya mazima, nga tukyali mu nsiisira eno, tusinda nga twegomba okwambazibwa omubiri ogw'omu ggulu gwe tulibeeramu, nga tusuubira nti bwe tuligwambazibwa, tuleme kusangibwa nga tuli bwereere. Kuba nga bwe tukyali mu mubiri guno, tusinda nga tuzitoowereddwa, si lwa kuba nti twagala okugwambulwa, wabula twagala kwongera kwambazibwa, olwo ogwo ogufa gulyoke gumiribwe obulamu. Eyatuteekerateekera ekyo ye Katonda, eyatuwa Mwoyo Mutuukirivu okuba omusingo. Kyetuva tuguma bulijjo. Era tumanyi nti bwe tuba nga tuli mu mubiri guno, tuba wala ne Mukama. Tutambulira ku kukkiriza, sso si ku kulaba. Tuguma, era kye twandisinze okwagala, kwe kuva mu mubiri guno, tube wamu ne Mukama. N'olwekyo kye tugenderera, kwe kumusanyusa, ne bwe tuba ewala, ne bwe tuba okumpi naye. Ffenna tuli ba kulabika mu maaso g'entebe ya Kristo kw'asalira emisango, buli omu alyoke aweebwe ekimusaanira, okusinziira ku birungi oba ku bibi bye yakola, ng'akyali mu mubiri guno. N'olwekyo nga bwe tumanyi nti kituufu okutya Mukama, tugezaako okukkirizisa abantu. Kyokka Katonda amanyi nga bwe tuli, era nsuubira nti nammwe mumanyi mu mitima gyammwe. Tetuddamu kweyanjula gye muli, naye tubawa kye munaasinziirangako okwenyumiriza ku lwaffe, mulyoke mubenga n'ekyokuddamu abo abeenyumiririza mu byokungulu, sso si mu ebyo eby'omu mutima. Oba nga tulaluse, tulaluse lwa Katonda. Oba nga tulina amagezi agateredde, tuli nago lwa kugasa mmwe, era tufugibwa kwagala kwa Kristo. Tumanyi nti omu yafiirira bonna, olwo abo abalamu balemenga kuba balamu ku lwabwe, wabula babenga balamu ku lw'oyo eyabafiirira, n'azuukira. N'olwekyo, okuva kaakano tetukyakozesa magezi ga bantu buntu okumanya omuntu. Newaakubadde nga twamanyako Kristo mu ngeri eyo, naye kaakano si bwe tumumanyi. Buli eyeegatta awamu ne Kristo, kyava aba muntu muggya: empisa ez'obulamu obw'edda nga ziweddewo, olwo ng'empisa ez'obulamu obuggya zitandise. Ebyo byonna biva eri Katonda eyatutabaganya naye yennyini, ng'ayita mu Kristo, era n'atuwa omulimu ogw'obutabaganya. Kwe kugamba nti Katonda yali mu Kristo, ng'atabaganya abantu bonna naye yennyini, nga tabavunaana bibi byabwe, era yatukwasa obubaka obw'okutabaganya. N'olwekyo tuli babaka ba Kristo, Katonda ng'ali ng'abeegayirira mmwe, ng'ayita mu ffe. Tubeegayirira mu linnya lya Kristo, mutabagane ne Katonda. Kristo ataalina kibi, Katonda yamufuula ekibi, ffe olw'okwegatta awamu ne Kristo, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda. Kale nga bwe tukolera awamu ne Katonda, tubeegayirira muleme kugayaalirira kisa Katonda kye yabakwatirwa. Katonda agamba nti: “Nakuwuliriza mu kiseera eky'okusaasirirwamu, ne nkuyamba ku lunaku olw'okulokolerwako.” Laba kaakano kye kiseera eky'okusaasirirwamu, era leero lwe lunaku olw'okulokolerwako. Tetwagala kukola kyesittaza muntu n'omu, sikulwa ng'omulimu gwaffe gubaako kye gunenyezebwamu. Naye mu byonna tulaga nga tuli baweereza ba Katonda, nga tugumiikiriza nnyo mu kubonyaabonyezebwa, mu bitukaluubirira, ne mu kunyolwa. Tukubiddwa, tusibiddwa mu makomera, tuyise mu busasamalo, tukoze emirimu, era nga tetwebaka wadde okulya. Era mu butukuvu, mu kumanya, mu kugumiikiriza, mu kuba ab'ekisa, mu kuba ne Mwoyo Mutuukirivu era n'okwagala okutaliimu bukuusa, tulaga nga tuli baweereza ba Katonda. Twogera amazima, era tukolera ku maanyi ga Katonda. Era obutuukirivu bye byokulwanyisa bye tulina mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono. Abamu batussaamu ekitiibwa, abalala batugaya. Abamu batwogerako bubi, abalala batwogerako bulungi. Tuyitibwa balimba, sso nga twogera mazima. Tuli ng'abatamanyiddwa, sso nga bonna batumanyi. Tuli ng'abafudde, sso nga tuli balamu. Newaakubadde nga tubonerezebwa, naye tetuttibwa. Newaakubadde nga tunakuwazibwa, naye tuli basanyufu bulijjo. Tuli ng'abaavu, naye tugaggawaza bangi. Tuli ng'abatalina kantu, naye ddala tulina byonna. Mmwe ab'e Korinto, twogedde lwatu gye muli, tetubakisizza kiri mu mitima gyaffe. Ffe tetubeekwekeredde, wabula mmwe mutwekwekeredde. Njogera nammwe ng'abaana bange, nammwe mube nga ffe bwe tuli eri mmwe, temutwekwekerera. Temwegattanga wamu na batakkiriza, kubanga tekibasaanira mmwe. Kale obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba ekitangaala kitabagana kitya n'ekizikiza? Era Kristo atabagana atya ne Sitaani? Oba, omugoberezi wa Kristo atabagana atya n'atali mugoberezi wa Kristo? Era Essinzizo lya Katonda litabagana litya n'ebyo ebitali Katonda? Ffe tuli Ssinzizo lya Katonda Nnannyinibulamu. Nga ye bw'agamba nti: “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo. Ndiba Katonda waabwe, nabo ne baba bantu bange.” Era Mukama agamba nti: “N'olwekyo mubaveemu, mwawukane nabo. Era temukwatanga ku kitali kirongoofu, olwo nange ndibaaniriza mmwe. Ndiba kitammwe, nammwe ne muba batabani bange ne bawala bange. Bw'atyo Mukama Omuyinzawaabyonna bw'agamba.” Abaagalwa, nga bwe twasuubizibwa ebyo, twetukuze, mu ebyo byonna ebyonoona omubiri, n'ebyonoona omwoyo, tulyoke tubeerere ddala batukuvu abassaamu Katonda ekitiibwa. Mutuwe ekifo mu mitima gyammwe. Tetuliiko gwe twakola kabi, tetuliiko gwe twazikiriza, era tetuliiko gwe twalyazaamaanya. Ebyo sibyogedde lwa kubanenya. Nagambye dda nti muli baagalwa baffe, abali naffe bulijjo mu kufa, oba mu bulamu. Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzaamu nnyo. Newaakubadde tubonyaabonyezebwa, naye nziramu amaanyi, ne nzijula essanyu. Era ne bwe twatuuka mu Makedooniya, tetwawummula n'akatono. Twabonaabona eruuyi n'eruuyi: twali twetooloddwa ennyombo, era ng'emitima gyaffe gyeraliikirira. Kyokka Katonda asanyusa abasobeddwa, yatusanyusa olw'okujja kwa Tito. Si lwa kujja kwe kwokka, naye era n'okututegeeza nga bwe mwamusanyusa. Yatutegeeza nga bwe mwagala ennyo okundabako, nga bwe mulumwa olw'ebyo ebyagwawo, era nga bwe munnumirwa ennyo. Neeyongera okusanyuka olw'ebyo. Newaakubadde nga nabanakuwaza mu bbaluwa yange, ssejjusa. Weewaawo nejjusa kubanga nalaba nti ebbaluwa eyo yabanakuwaza okumala akaseera. Naye kaakano nsanyuka, si lwa kuba nga nabanakuwaza, naye kubanga okunakuwala kwammwe kwabaviiramu okwenenya. Okunakuwala okwo Katonda yakusiima, n'olwekyo tetulina kye twabafiiriza. Okunakuwala okusiimibwa Katonda, kuleeta okwenenya okuvaamu okulokolebwa, era tekuleetera bantu kujulirira. Naye okunakuwala okw'abantu ab'ensi, kuvaamu okufa. Kale mulabe okunakuwala okwo Katonda kw'asiima bye kwabaleetera: mwafuba nnyo, mwennyonnyolako, mwasunguwala, mwatya, mwegomba okundaba, mwewaayo eri Katonda, era mweteekateeka okubonereza buli akola ekibi. Mu byonna mweraga nga temuliiko kye munenyezebwa mu kino. Kale newaakubadde nga nabawandiikira ebbaluwa eyo, saagiwandiika lw'oyo eyakola ekibi, oba olw'oyo eyakolwa ekibi, wabula nagiwandiika lwa kukakasa mu maaso ga Katonda nti mutulumirwa. N'olwekyo twaddamu amaanyi. Ne mu kuddamu amaanyi, tweyongera okusanyuka ennyo olw'essanyu lya Tito, mmwe mwenna gwe mwawonya okweraliikirira. Ne bwe mba nga nabatenda nnyo gy'ali, temwanswaza. Kuba nga byonna bye twabategeeza bwe biri eby'amazima, n'okubatenda eri Tito kweragira ddala nga kwa mazima. Era naye olw'okujjukira nga bwe mwamussaamu ennyo ekitiibwa, yeeyongedde nnyo okubaagala. Nsanyuse kubanga nnyinza okubeesigira ddala mu byonna. Abooluganda, twagala mumanye ekisa Katonda kye yakwatirwa ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Makedooniya. Mu kugezebwa kwabwe, nga babonyaabonyezebwa ennyo, baafuna essanyu lingi, ne libaleetera okugaba nga tebeebalira, newaakubadde nga baavu nnyo. Era nkakasa nti baagaba ng'okufuna kwabwe bwe kuli. Naye era baasinzaawo, ate nga beeyagalidde bokka. Baatwegayirira nnyo bakkirizibwe okwegatta n'abo abayamba abantu ba Katonda. Era baakola kye twali tutasuubira! Okusooka beewaayo eri Mukama, era olw'okwagala kwa Katonda, ne beewaayo eri ffe. Kyetwava tusaba Tito eyatandika omulimu ogwo ogw'ekisa ajje agumalirize ne mu mmwe. Kale nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza ne mu kwogera ne mu kumanya ne mu kunyiikirira byonna era ne mu kutwagala, twagala musukkirire ne mu mulimu guno ogw'ekisa. Ekyo sikyogera nga mbalagira bulagizi, wabula mbalaga abalala nga bwe beetegese okuyamba, ndyoke ndabe nti okwagala kwammwe kwa mazima. Mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo. Mumanyi nti newaakubadde nga yali mugagga, kyokka yafuuka mwavu ku lwammwe, mmwe mulyoke mugaggawale olw'obwavu bwe. Amagezi ge mbawa ku kino, kwe kumaliriza ekyo kye mwatandika omwaka ogwayita. Mmwe mwasinga, si mu kukola kwokka, naye ne mu kusanyukira kye mukola. Kale obumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, bulabikire mu kukimaliriza, nga mukozesa ebyo bye mulina. Kuba oba nga mwegomba okubaako kye muwaayo, Katonda akkiriza ekyo kye mulina, sso si ekyo kye mutalina. Saagala muyambe balala ate mmwe mwerumye. Naye olw'obwenkanya, mmwe bye mulina ebingi mu kiseera kino, biyambe bo mu kwetaaga kwabwe. Ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi, biriyamba mmwe mu kwetaaga kwammwe, walyoke wabeewo okwenkanankana. Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Eyakuŋŋaanya ebingi, tebyamuyitirirako, n'eyakuŋŋaanya ebitono, yafuna ebimumala.” Kyokka twebaze Katonda awadde Tito omwoyo ogubalumirwa ennyo nga ffe gwe tulina. Teyakoma ku kukkiriza bukkiriza kye twamusaba, wabula naye yennyini yali mwetegefu, era ajja kujja gye muli nga yeeyagalidde. Era awamu naye, tubatumidde owooluganda amanyiddwa ennyo ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo. Amanyiddwa kubanga ategeeza abantu Amawulire Amalungi. Era ekirala, ebibiina by'abakkiriza Kristo bimulonze okutuwerekera n'okutuyamba mu mulimu guno ogw'ekisa, gwe tukola olw'okuweesa Katonda ekitiibwa n'okulaga bwe twagala okuyamba. Twegendereza waleme kubaawo atwemulugunyiza olw'engeri gye tugabanyaamu ebirabo abantu bye bawa. Kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka, wabula ne mu maaso g'abantu. Era awamu nabo, tubatumidde owooluganda omulala, gwe tugezezza emirundi emingi, ne tusanga nga munyiikivu mu bintu bingi. Era kaakano yeeyongedde okuba omunyiikivu, kubanga abeesiga nnyo mmwe. Tito ye, ye mukozi munnange bwe tukola mu kubaweereza mmwe. Era baganda baffe abo, be babaka b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, era abaweesa Kristo ekitiibwa. Kale mu maaso g'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo, mubalage ekikakasa okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe. Tekinneetaagisa kubawandiikira olw'ebirabo ebikuŋŋaanyizibwa okuyamba abantu ba Katonda ab'omu Buyudaaya. Mmanyi nti muli beetegefu okuyamba, era kindeetera okwenyumiriza eri ab'omu Makedooniya, nga mbagamba bo nti: “Ab'omu Akaya beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita.” Era obumalirivu bwammwe bukubirizza bangi mu bo. Naye mmwe mbatumidde, abooluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere, wabula mube beetegefu nga bwe nagamba. Sikulwa ng'abamu ku b'omu Makedooniya bajja nange, ne tusanga nga temuli beetegefu, ffe, ne bwe siiyogere ku kuswala okwammwe, ne tufa ensonyi, olw'okubeesigira obwereere. Kyenvudde ndowooza nti kituufu okubatumira abooluganda bansooke okujja gye muli, bateeketeeke ekirabo ekyo kye mwasuubiza, kisangibwe nga kitegekeddwa lwa kweyagalira, sso si lwa kuwalirizibwa. Mujjukire nti oyo asiga ng'akekkereza ensigo, alikungula bitono; kyokka oyo asiga ennyingi, alikungula bingi. Kale buli omu akole nga bw'amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya, wadde olw'okuwalirizibwa. Katonda ayagala oyo agaba nga musanyufu. Era Katonda ayinza okubawa ebyo ebisinga ku bye mwetaaga, mulyoke mube na bingi bulijjo, era mugabe bingi olwa buli mulimu omulungi. Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yagaba nnyo ng'agabira abaavu. Obutuukirivu bwe bwa mirembe gyonna.” Era Katonda awa omusizi ensigo, n'amuwa n'emmere ey'okulya, anaayazanga ensigo zammwe ne mweyongera okugaba. Anaabagaggawazanga mu byonna ne mugaba nnyo, abantu balyoke beebazenga Katonda olw'ebyo bye tukoze. Okukola omulimu guno tekukoma ku kuyamba bantu ba Katonda kyokka, naye era kwongera okuleetera abantu okwebaza ennyo Katonda. Ekyo kye mukola kikakasa okukkiriza kwammwe, era kireetera abantu okuwa Katonda ekitiibwa, si lwa kukkiriza Amawulire Amalungi kyokka, wabula era mugagondera, ne mubawa ku byammwe era ne muwa n'abalala bonna. N'engeri gye babasabiramu eri Katonda, eraga nga bwe babaagala ennyo, kubanga Katonda yabakwatirwa mmwe ekisa ekitasangikasangika. Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekyo ekitanyumizika. Nze nzennyini Pawulo, ayogerwako nti mba mutiitiizi nga ndi nammwe ne mba wa maanyi nga siri nammwe, mbeegayirira olw'obuwombeefu n'obukkakkamu bwa Kristo. Mbasaba nti bwe ndiba nga ndi nammwe, muleme kundeetera kwogeza maanyi, ge nkozesa eri abalala abalowooza nti tugoberera bya nsi. Kuba newaakubadde nga tuli mu nsi, naye tetulwana ng'ab'ensi. Ebyokulwanyisa byaffe mu lutalo, tebiri ng'eby'ab'ensi, wabula birina amaanyi agava eri Katonda, okusaanyaawo ebigo. Tumalirawo ddala empaka era na buli ekyekulumbaza okuziyiza Katonda okumanyibwa. Era tujeemulula buli kirowoozo, kiwulire Kristo. Bwe mulimala okugondera ddala, tweteeseteese okubonereza obujeemu bwonna. Mulabe ebintu nga bwe biri. Omuntu bwe yeerowooza nti wa Kristo, ajjukire nti naffe tuli ba Kristo nga ye. Tekinkwasa nsonyi ne bwe mba nga nsukkirizza okwetenda olw'obuyinza bwa Mukama bwe yatuwa olw'okubazimba, sso si olw'okubazikiriza. Sandyagadde kuba ng'abatiisa na bbaluwa zange. Abantu bagamba nti: “Ebbaluwa za Pawulo nkambwe era za maanyi, kyokka bw'abeera naffe aba munafu, era ebigambo bye binyoomebwa.” Alowooza bw'atyo, ategeere nti bye tugamba mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe. Ffe tetwagala kwebalira mu abo abeetendereza, wadde okwegeraageranya nabo. Bwe beegeraageranya, beegeraageranya ku bo bennyini. Tebalina magezi. Naye ffe tetujja kwenyumiriza nga tetuliiko kkomo. Tujja kukoma ku mirimu Katonda gye yatugerera, nga mw'otwalidde n'ogwo gwe twakola mu mmwe. Nga mmwe bwe muli mu kitundu Katonda kye yatugerera, tetwakibuuka bwe twajja gye muli nga tubategeeza Amawulire Amalungi agafa ku Kristo. Tetwenyumiriza lwa mulimu abalala gwe baakola ebweru w'ekitundu Katonda kye yatugerera. Wabula tusuubira nti okukkiriza kwammwe nga bwe kugenda kweyongera, era n'omulimu gwaffe mu mmwe gweyongera okugaziwa. Olwo tulisobola okutuusa Amawulire Amalungi ku bantu abali mu bitundu ebiri eyo okuyisa ewammwe, nga tetwenyumiriza lwa mulimu ogukoleddwa abalala mu kitundu kyabwe. Kyokka ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Eyeenyumiriza, yeenyumirizenga mu Mukama waffe.” Omuntu eyeetenda, si ye akkirizibwa, wabula oyo Mukama gw'asiima. Nandyagadde muŋŋumiikirize mu busirusiru bwange obutono. Ddala muŋŋumiikirize. Mbalinako ebbuba nga Katonda ly'abalinako, kubanga nabaleeta eri Kristo aboogereze, nga muli ng'omuwala embeerera aweebwayo eri bba omu yekka. Kyokka ntya nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Haawa olw'obukujjukujju bwagwo, ebirowoozo byammwe bijja kubakyamya, muleme okweweerayo ddala eri Kristo mu mazima. Omuntu bw'ajja n'abategeeza Yesu omulala, atali oyo gwe twabategeeza, oba bwe muweebwa Mwoyo omulala, atali oyo gwe mwaweebwa, oba Amawulire Amalungi amalala, agatali ago ge mwafuna, mwanguwa okubikkiriza. Ndowooza nti abo abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza n'akatono. Nnyinza okuba nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye amagezi nnina, era ekyo twakibalaga mu byonna ne mu buli ngeri. Bwe nabategeeza Amawulire Amalungi agava eri Katonda, sirina kye nabasasuza. Neetoowaza, mmwe mulyoke mugulumizibwe. Ekyo nakola kibi? Ebibiina ebirala eby'abakkiriza Kristo nabimalako kumpi buli kantu, okufuna ebinnyamba nga nkola omulimu mu mmwe. Era bwe nabanga nammwe nga neetaaga, siriiko n'omu ku mmwe gwe nazitoowerera. Abooluganda abaava mu Makedooniya bandeetera byonna bye nali neetaaga. Nali mwegendereza, era njija kwegenderezanga nneme okubazitoowerera mmwe mu ngeri yonna. Ng'amazima ga Kristo bwe gali mu nze, tewali alinzigyako kwenyumiriza okwo mu Akaya yonna. Lwaki? Kubanga mmwe sibaagala? Katonda amanyi nti mbaagala. Njija kweyongera okukola ekyo kye nkola kaakano, ndyoke nziyize abo abeenyumiririza mu butume bwabwe, nga bagamba nti bakola nga bwe tukola. Abantu ng'abo beeyita batume, sso nga si bwe bali. Bakozi ab'obukuusa, abeefuula abatume ba Kristo. Era ekyo tekyewuunyisa, kubanga ne Sitaani yefuula malayika ow'ekitangaala. N'olwekyo kyangu n'abaweereza be okwefuula abaweereza b'eby'obutuukirivu. Ku nkomerero baliweebwa ekibasaanira olw'ebikolwa byabwe. Nziramu okugamba nti waleme kubaawo n'omu alowooza nti ndi musirusiru. Naye ne bwe mundowoozaako bwe mutyo, waakiri munzikirize mu busiru bwange nange nneenyumirizeeko akatono. Kye njogera Mukama si ye akinjogeza, wabula mu kwenyumiriza kuno, nkyogera ng'omusirusiru. Naye nga bwe waliwo bangi abeenyumiriza olw'eby'ensi, nange ka neenyumirize. Mmwe nga bwe muli bagezi, mugumiikiriza abasirusiru. Omuntu bw'abafuula abaddu oba bw'abanyaga, oba bw'abawamba, oba bwe yeekulumbaza, oba bw'abakuba mu maaso, mugumiikiriza. Ka njogere nga nswadde, nti ffe ekyo tetwasobola kukikola. Naye omuntu ky'aguma okwenyumiririzaamu, (njogera ng'omusirusiru), nange ŋŋuma okukyenyumiririzaamu. Bo Beebureeyi? Nange bwe ndi. Bo Bayisirayeli? Nange bwe ndi. Bo bazzukulu ba Aburahamu? Nange bwe ndi. Bo baweereza ba Kristo? (Njogera ng'omulalu), nze mbasinga. Mbasinga okukola ennyo. Nsibiddwa mu makomera emirundi mingi okusinga bo. Nkubiddwa nnyo okubasinga, era emirundi mingi nabulako katono okufa. Abayudaaya bankuba emirundi etaano emiggo amakumi asatu mu mwenda. Emirundi esatu nakubibwa enga, era olumu nakubibwa amayinja. Eryato lyatwonoonekako emirundi esatu, ne nsula era ne nsiiba mu buziba bw'ennyanja. Mu ŋŋendo zange ennyingi natuukibwako akabi mu migga, akabi ak'abanyazi, akabi ke natuusibwako ab'eggwanga lyange, n'akabi ke natuusibwako ab'amawanga amalala. Natuukibwako akabi mu kibuga, akabi mu ddungu, akabi mu nnyanja, era n'akabi akantuusibwako abooluganda ab'obulimba. Nakolanga nnyo ne nkoowa. Emirundi mingi seebakanga. Nalumwanga enjala n'ennyonta, era nasiibanga emirundi mingi. Nabeeranga mu mpewo, ng'ate sirina na kye neesuulako. Era okwongera ku ebyo, buli lunaku mba nzitoowereddwa okweraliikirira olw'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo. Ani aggwaamu amaanyi, ne simulumirwa? Ani akemebwa n'agwa, ne sisaalirwa? Oba nga ndi wa kwenyumiriza, nja kwenyumirizanga olw'ebyo ebiraga obunafu bwange. Katonda aweebwa ekitiibwa ennaku zonna, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, amanyi nga sirimba. Bwe nali mu Damasiko, omufuzi eyateekebwawo kabaka Arete, yakuuma ekibuga Damasiko ankwate, kyokka ne bampisa mu ddirisa, nga bantadde mu kisero, ne banzisiza ku kisenge, ne mmuwona. Ndi wa kwenyumiriza, newaakubadde okwenyumiriza tekugasa. Naye ka njogere ku kulagibwa n'okulabikirwa Mukama waffe. Mmanyi omugoberezi wa Kristo eyatwalibwa mu ggulu erya waggulu ennyo, kati emyaka kkumi n'ena egiyiseewo. Simanyi oba nga ekyo kyabeererawo ddala, oba nga kwali kulabikirwa. Simanyi, Katonda ye amanyi. Era mmanyi nti omuntu oyo, (oba nga ekyo kyabeererawo ddala, oba nga kwali kulabikirwa, simanyi, Katonda ye amanyi), yatwalibwa mu kifo eky'okwesiima, n'awulira ebigambo ebitannyonnyolekeka, omuntu by'atasobola kwogera. Kale nneenyumirizanga olw'omuntu oyo, naye sijja kwenyumiriza ku lwange, okuggyako olw'ebyo ebiraga bwe ndi omunafu. Kyokka ne bwe nandyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru, kubanga nandyogedde mazima. Naye ka nkireke, kubanga saagala wabeewo muntu n'omu andowoozaako bisinga ku ebyo by'andabamu, ne by'awulira njogera. Naye olw'okunziyiza okwekulumbaza olw'ebintu ebyewuunyisa bye nalaba emirundi emingi, naweebwa obulumi obungi mu mubiri gwange, nga ye mubaka wa Sitaani, ambonyeebonye, nneme kwekulumbaza. Emirundi esatu neegayirira Mukama waffe amponye obulumi obwo, kyokka yaŋŋamba nti: “Obuyambi bwe nkuwa bukumala, kubanga amaanyi gange galabikira mu bunafu bwo.” Kyennaavanga nsanyuka okwenyumiriza olw'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gabeere mu nze. Kale olwa Kristo nsanyukira obunafu, okuvumibwa, ebizibu, okuyigganyizibwa era n'ebinkaluubirira, kubanga lwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi. Nfuuse ng'omusirusiru, naye mmwe mumpalirizza. Mmwe mwandibadde ab'okunsiima. Kuba newaakubadde nga siriiko bwe ndi, naye abo abatume abakulu ennyo, tebalina kye bansingamu n'akatono. Ebyo ebiraga nti ddala ndi mutume, byakolerwa mu mmwe mu bugumiikiriza obungi. Mwalaba ebyewuunyo, ebyamagero, n'eby'amaanyi. Kale ebibiina ebirala eby'abakkiriza Kristo, bibasinza ki? Okuggyako nti nze saabazitoowerera mmwe. Munsonyiwe olw'obutaba mwenkanya mu kino. Kaakano neeteeseteese okujja gye muli omulundi ogwokusatu, naye sijja kubazitoowerera. Sibanoonyaako byammwe, wabula noonya mmwe. Abaana si be basaana okuterekeranga abazadde baabwe, wabula abazadde be basaana okuterekeranga abaana baabwe. Nze njija kuwaayo ebyange, era nange nneeweereyo ddala ku lwammwe, nga ndi musanyufu nnyo. Kale bwe mbaagala ennyo, mmwe musaana kunjagala katono? Mukkiriza nti nze saabazitoowerera, naye mugamba nti nali mukalabakalaba, ne mbatega mu lukwe, ne mbakwasa. Mu abo be nabatumira, mulimu gwe nakozesa okubalyakula? Neegayirira Tito okujja gye muli, era ne ntuma owooluganda omulala awamu naye. Tito oyo ye yabalyakula? Ye nange tetwakolera mu mutima gumu? Era tetwakwata kkubo limu? Obw'edda mulowooza nti twewolereza mu maaso gammwe? Abaagalwa, ffe abagoberezi ba Kristo byonna bye twogera, tubyogerera mu maaso ga Katonda olw'okubagasa mmwe. Kye ntya, kwe kujja mpozzi ne mbasanga nga muli nga bwe saagala, oba mmwe okundaba nga nninga bwe mutayagala, olwo mpozzi ne wabaawo okuyombagana, obuggya, obusungu, okwefaako, okugeyaŋŋana, olugambo, okwekulumbaza, era n'okutabukatabuka. Era ntya nti bwe ndijja nate, Katonda wange alintoowaza mu maaso gammwe, ne nkungubagira bangi abaakola ebibi ne bateenenya bukaba, n'obwenzi, n'obugwagwa bye baakola. Guno gwe mulundi ogwokusatu gwe njija gye muli. Buli kigambo kirikakasibwa nga waliwo abajulirwa babiri oba basatu. Bwe nali nammwe ku mulundi ogwokubiri nalabula abo abaayonoona edda, era nalabula n'abalala bonna. Ne kaakano, newaakubadde nga siri nammwe, nziramu okubalabula nti bwe ndijja, siribaako gwe nsaasira. Bulijjo mmwe mwagala ekikakasa nti Kristo ayogerera mu nze. Kristo oyo tabafuza bunafu, wabula aba wa maanyi mu nze. Kubanga newaakubadde yakomererwa ku musaalaba nga munafu, kyokka mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Naffe mu ye tuba banafu. Kyokka mu kukolagana nammwe, tujjanga kuba naye mu maanyi ga Katonda. Mwekebere era mwegeze mulabe oba nga mukyanyweredde mu kukkiriza. Temumanyi nti Kristo ali mu mmwe? Mpozzi ng'ekigezo ekyo kibalemye! Nsuubira nti mujja kumanya nti ffe tetulemeddwa. Naye tusaba Katonda, muleme kukola kibi, si lwa kwagala kulabika nti twakola bulungi, wabula mmwe mukole ekituufu, ffe ne bwe tunaalabika ng'abalemeddwa. Tetuyinza kukola kintu na kimu ekiwakanya amazima, wabula okugalwanirira. Tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, naye mmwe ne muba ab'amaanyi. Era kye tubasabira mmwe eri Katonda, kwe kutuukirira. Bino mbibawandiikidde nga sinnajja gye muli, bwe ndijja nneme okuba omukambwe mu kukozesa obuyinza Mukama bwe yampa okubazimba, sso si okubazikiriza. Kale kaakano abooluganda, mweraba. Mufube okuba abatuukiridde, mugumyaŋŋanenga, mulowoozenga bumu, mube n'emirembe, ne Katonda nnannyini kwagala n'emirembe, anaabanga nammwe. Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana. Abantu ba Katonda bonna babalamusizza. Ekisa Mukama waffe Yesu Kristo ky'atukwatirwa, n'okwagala kwa Katonda kw'atwagalamu, n'okussa ekimu Mwoyo Mutuukirivu kw'atuwa, bibeerenga nammwe mwenna. Nze Pawulo omutume, obutume bwange tebwava mu bantu, wadde okuyita ku muntu n'omu, wabula bwava eri Yesu Kristo, ne Katonda Kitaffe, eyazuukiza Yesu oyo. Nze n'abooluganda bonna be ndi nabo, tuwandiikira ab'ebibiina by'abakkiriza Kristo ebiri e Galatiya. Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe ekisa, era babawe emirembe. Kristo oyo yeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi, nga Katonda waffe era Kitaffe bwe yayagala. Katonda oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Mbeewuunya mmwe! Mu kaseera kano akatono, muvudde ku oyo eyabayita olw'ekisa kya Kristo, ne muwuliriza Amawulire Amalungi amalala. Mu butuufu, tewali Mawulire Malungi malala, wabula waliwo abantu abamu ababatawaanya, nga bagezaako okukyamya Amawulire Amalungi aga Kristo. Kyokka ne bwe tuba ffe, oba malayika avudde mu ggulu, n'abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe. Nga bwe twayogera okusooka, era ne kaakano nkiddamu nti: bwe wabangawo abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe. Kale kaakano nkolerera kusiimibwa bantu, oba Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa mbadde nkyanoonya kusanyusa bantu, sandibadde muweereza wa Kristo. Abooluganda, mbategeeza nti Amawulire Amalungi ge nabategeeza si ga bantu buntu. Saagafuna kuva ku muntu, era tewali n'omu yaganjigiriza, wabula Yesu yennyini ye yagammanyisa. Mwawulira nga bwe nabeeranga, nga nkyagoberera eddiini y'Ekiyudaaya, era mwawulira nga bwe nayigganyanga ennyo ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, nga ngezaako okukizikiriza. Era nasinga nnyo Bayudaaya bannange bwe twakula, ne mbasukkirira mu kujjumbira obulombolombo bwa bajjajjaffe. Naye Katonda yanjawula nga sinnava na mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye. Era bwe yasiima okummanyisa Omwana we, ndyoke mmutegeeze ab'amawanga amalala, sirina gwe neebuuzaako, wadde okwambuka e Yerusaalemu eri abo abansooka okuba abatume, wabula nagenda mu Buwarabu, oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko. Ate bwe waayitawo emyaka esatu, ne nnyambuka e Yerusaalemu okulaba Keefa, ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano. Kyokka ssaalaba mulala ku batume, okuggyako Yakobo muganda wa Mukama waffe. Ndayira mu maaso ga Katonda nti bye mpandiika bya mazima, sirimba. Oluvannyuma nagenda mu bitundu by'e Siriya ne Kilikiya. Era nali sinnamanyibwa ba bibiina by'abakkiriza Kristo, ab'omu Buyudaaya, wabula baawuliranga buwulizi, nti oyo eyatuyigganyanga edda, kaakano ategeeza abantu bakkirize ekyo kye yagezangako okuzikiriza. Era ne bagulumiza Katonda ku lwange. Oluvannyuma nga wayiseewo emyaka kkumi n'ena, nayambuka nate e Yerusaalemu, wamu ne Barunaba, nga ntutte ne Tito. Nagendayo kubanga Katonda yandaga nti nteekwa okugendayo. Ne ntuula n'abatume mu kyama, ne mbanjulira Amawulire Amalungi ge ntegeeza ab'amawanga amalala. Ekyo nakikola, sikulwa ng'omulimu gwe nali nkoze ne gwe nali ŋŋenda okukola, guba ogw'obwereere. Tito gwe nali naye, newaakubadde nga yali Muyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa. Waaliwo abooluganda ab'obulimba abaasensera mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, nga baagala okutuzza mu buddu. Abo tetwabagonderako n'akatono. Twayagala tulwanirire amazima g'Amawulire Amalungi ku lwammwe. Abo abaabalibwanga ng'abakulembeze oba ddala bwe bali– ekyo ku nze si nsonga kubanga Katonda tasosola mu bantu– abakulembeze abo, tebalina kye bannyongerako. Naye baalaba nga nakwasibwa omulimu ogw'okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi, nga Peetero bwe yakwasibwa ogw'okugategeeza Abayudaaya. Katonda eyafuula Peetero okuba omutume w'Abayudaaya, era ye yafuula nange okuba omutume w'ab'amawanga amalala. Era Yakobo, Keefa ne Yowanne abaalowoozebwanga okuba empagi, bwe baategeera omulimu gwe yampa, ne batukwata mu ngalo, nze ne Barunaba, okulaga nti tuli bumu nabo. Ne tukkaanya: bo bagende eri Abayudaaya, ffe tugende eri ab'amawanga amalala. Wabula baatusaba tujjukirenga abantu baabwe abaavu, era ekyo nanyiikira nnyo okukikola. Keefa bwe yajja mu Antiyookiya, namunenya lwatu kubanga yali mukyamu. Abantu abamu abaava eri Yakobo, bwe baali tebannajja, Keefa yalyanga wamu n'ab'amawanga amalala. Kyokka abantu abo bwe baatuuka, ne yeeyawula ku bali, n'abaawukanako olw'okutya abo abawagira okukomolebwa. N'Abayudaaya abalala be yali nabo ne beegatta naye, mu bukuusa bwe. Naye bwe nalaba nga tebagoberedde Mawulire Amalungi mu mazima, ne ŋŋamba Keefa nga tuli mu maaso gaabwe bonna, nti: “Ggwe oli Muyudaaya, naye okwata empisa z'ab'amawanga amalala ezitali za Kiyudaaya. Kale oyinza otya okuwaliriza ab'amawanga amalala okukwata empisa z'Ekiyudaaya?” Ffe twazaalibwa nga tuli Bayudaaya, nga tetuli “Ba mawanga malala aboonoonyi,” nga bo bwe bayitibwa. Naye tumanyi nti omuntu aba omutuukirivu lwa kukkiriza Yesu Kristo, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira. Naffe twakkiriza Yesu Kristo tulyoke tube abatuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga tewali n'omu ayinza kufuuka mutuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira. Kale kaakano bwe tufuba okuba abatuukirivu mu Kristo, ate ne tusangibwa nga naffe tuli boonoonyi, ekyo kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Nedda, tekisoboka. Bwe nziramu okuzimba bye namenya, nneeraga nze nzennyini nga ndi mwonoonyi, kubanga mu Mateeka, nafa, nga nzitibwa Amateeka, ndyoke mbe mulamu ku bwa Katonda. Nakomererwa ku musaalaba wamu ne Kristo. Kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula Kristo ye mulamu mu nze. Era obulamu bwe nnina kaakano, mbulina olw'okukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala, ne yeewaayo ku lwange. Sigaana kisa kya Katonda. Naye singa abantu baba batuukirivu lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, olwo Kristo aba yafiira bwereere. Mmwe ab'e Galatiya ababuyabuya, ani yabaloga? Mwannyonnyolwa bulungi, ne mulaba Yesu Kristo nga bwe yakomererwa ku musaalaba. Kino kyokka kye njagala muntegeeze: mwafuna Mwoyo Mutuukirivu lwa kubanga mwatuukiriza ebyo Amateeka bwe galagira, oba lwa kuwulira na kukkiriza Amawulire Amalungi? Bwe mutyo temulina magezi? Mmwe abaatandika n'amaanyi aga Mwoyo Mutuukirivu, ate kaakano mwagala mumalirize n'amaanyi agammwe ku bwammwe? Ebyo bye mwabonaabonamu bya bwereere? Ddala si bya bwereere. Katonda abawa Mwoyo we, era akola ebyamagero mu mmwe, lwa kubanga mutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, oba lwa kubanga mwawulira ne mukkiriza Amawulire Amalungi? Mulowooze ku byatuuka ku jjajjaffe Aburahamu. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.” Kale mutegeere nti abalina okukkiriza, be bazzukulu ba Aburahamu. Olw'okulengera ebiri mu maaso nti Katonda aliwa ab'amawanga amalala obutuukirivu olw'okukkiriza kwabwe, ekyawandiikibwa kyekyava kitegeeza edda Aburahamu Amawulire Amalungi nti: “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.” Bwe kityo abo bonna abalina okukkiriza, baweebwa omukisa nga Aburahamu eyalina okukkiriza bwe yaguweebwa. Abo abeesigama ku kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, bakolimiddwa, kubanga kyawandiikibwa nti: “Buli ataatuukirizenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'Amateeka, akolimiddwa.” Kimanyiddwa nti tewali n'omu aba mutuukirivu lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga, “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.” Naye Amateeka, go tegeesigama ku kukkiriza. Kale, ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, anaabanga mulamu mu go.” Naye ffe Kristo yatununula, n'atuggya mu kikoligo ekireetebwa Amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli awanikibwa ku muti, akolimiddwa.” Kristo yessaako ekikolimo ekyo, omukisa Katonda gwe yasuubiza Aburahamu gulyoke guweebwe n'ab'amawanga amalala olwa Kristo Yesu, era olw'okukkiriza, tulyoke tufune Mwoyo Mutuukirivu eyasuubizibwa. Abooluganda, ne mu nkola ey'abantu eya bulijjo, omuntu bw'amala okukola endagaano n'enywera, tewali n'omu akkirizibwa kugiggyawo oba okugyongerako. Ebyo ebyasuubizibwa, byasuubizibwa Aburahamu ne muzzukulu we. Ekyawandiikibwa tekigamba nti: “Ne bazzukulu be,” ng'abangi, wabula kigamba nti “Ne muzzukulu we,” ng'ali omu, ye Kristo. Kye ŋŋamba kye kino nti Amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu, tegaggyaawo ndagaano eyanywezebwa Katonda, era tegadibya ekyasuubizibwa. Kale oba nga Katonda ky'awa kyesigama ku Mateeka, olwo kiba tekikyesigamye ku kusuubiza kwe; naye Katonda yakiwa Aburahamu kubanga yakimusuubiza. Kale Amateeka gaateekebwawo lwaki? Gaateekebwawo, okwonoona kulyoke kumanyike, era gaali ga kubeerawo okutuusa ku kujja kwa muzzukulu wa Aburahamu eyasuubizibwa. Go Amateeka gaaleetebwa bamalayika, nga gayita ku mutabaganya. Kyokka omutabaganya abaawo nga waliwo enjuyi bbiri. Naye Katonda ali omu. Kale Amateeka galwanagana n'ebyo Katonda bye yasuubiza? Nedda, tekisoboka. Singa gaateekebwawo nga ge gayinza okuleeta obulamu, olwo abantu bandibadde batuukirivu olw'okutuukiriza ebyo bye galagira. Naye ekyawandiikibwa kigamba nti ekibi kifuga byonna, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abo abakkiriza, nga kibaweebwa olw'okukkiriza Yesu Kristo. Okukkiriza bwe kwali tekunnajja, Amateeka gaatukuumanga nga tuli basibe, okutuusa okukkiriza lwe kwalagibwa. Kale Amateeka gaatukuuma okutuusa Kristo lwe yajja, tulyoke tube batuukirivu olw'okukkiriza. Naye kaakano okukkiriza nga bwe kwajja, tetukyafugibwa mukuumi. Olw'okukkiriza, mwenna muli baana ba Katonda mu Kristo Yesu, kubanga mmwe mwenna ababatizibwa mu Kristo, mwayambala Kristo. Tewakyali njawulo wakati w'Omuyudaaya n'ow'eggwanga eddala, wakati w'omuddu n'ow'eddembe, wakati w'omusajja n'omukazi. Mwenna muli omu mu Kristo Yesu. Kale nga bwe muli aba Kristo, muli bazzukulu ba Aburahamu, era mulifuna ekyo Katonda kye yasuubiza. Naye ŋŋamba nti omusika bw'aba ng'akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga byonna ye nnyinibyo. Aba mu mikono gya bakuza be, okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira lwe kiggwaako. Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato mu by'omwoyo, twali baddu abafugibwa emisambwa egy'oku nsi kuno. Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n'atuma Omwana we n'azaalibwa omukazi, era n'afugibwa Amateeka anunule abo abafugibwa Amateeka, tulyoke tufuuke abaana ba Katonda. Era olw'okuba abaana ba Katonda, Katonda kyeyava atuma Mwoyo w'Omwana we, mu mitima gyaffe. Mwoyo oyo akoowoola nti: “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”! Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana, era oba ng'oli mwana, Katonda alikuwa ebyo by'awa abaana be. Edda mwali temumanyi Katonda, n'olwekyo mwali baddu b'ebyo ebitali Katonda. Naye kaakano nga bwe mumanyi Katonda, oba ka ŋŋambe nti nga bwe mumanyiddwa Katonda, muyinza mutya okuddayo emabega eri obuyinza bw'emisambwa eminafu era egitagasa? Era mwagala giddemu okubafuga? Mukuza ennaku, n'emyezi, n'ebiro, era n'emyaka. Ntya nti sikulwa ng'okutegana kwange mu mmwe kufa bwereere. Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange nafuuka nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola. Mumanyi nga nze okulwala kye kyanfunyisa omukisa ne mbategeeza mmwe Amawulire Amalungi omulundi ogwasooka. Era newaakubadde nga nabakaluubirira olw'obulwadde bwange, naye temwannyooma, wadde okunneekanasa, wabula mwannyaniriza nga bwe mwandyanirizza malayika wa Katonda, nga bwe mwandyanirizza Kristo Yesu. Kale essanyu lyammwe eryo lyadda wa? Nze kennyini nnyinza n'okuboogerako nti singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugampa. Kaakano nfuuse mulabe wammwe olw'okubategeeza amazima? Abo abalabika ng'ababalumirwa, ebigendererwa byabwe si birungi. Kye baagala kwe kubaggya ku nze, mudde ku luuyi lwabwe. Naye kirungi okulumirwa abantu, bwe kiba ng'ekigendererwa kirungi. Ekyo kya mazima bulijjo, sso si lwe mba nammwe lwokka. Baana bange abaagalwa, ng'omukazi bw'alumwa ng'azaala, nange bwe nnumwa bwe ntyo ku lwammwe, okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe. Singa ndi nammwe kaakano, nandimanye kye nsaanye okwogera, kubanga ndi mweraliikirivu nnyo ku lwammwe. Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa Amateeka. Temuwulira Mateeka kye gagamba? Kyawandiikibwa nti Aburahamu yalina abaana babiri: omu yamuzaala mu muzaana, omulala mu wa ddembe. Ow'omuzaana yazaalibwa mu ngeri ya bulijjo. Kyokka ye ow'ow'eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza kwa Katonda. Ebyo biri nga lugero: abakazi abo ababiri z'Endagaano bbiri. Emu yakolerwa ku lusozi Sinaayi, ye azaala abaana ab'omuddu. Endagaano eyo ye Hagari. Hagari oyo lwe Lusozi Sinaayi, oluli mu Buwarabu; afaanaanyirizibwa ne Yerusaalemu ekiriwo kaakano, kubanga kyo n'abantu baakyo bali mu buddu. Naye Yerusaalemu eky'omu ggulu kya ddembe, era kyo ye nnyaffe. Kyawandiikibwa nti: “Sanyuka ggwe omugumba atazaala: leekaana nnyo ggwe atalumwanga kuzaala, kubanga omukazi eyalekebwawo, alina abaana bangi okusinga oyo ali ne bba.” Kale mmwe, abooluganda, muli baana abaazaalibwa olw'okusuubiza kwa Katonda, nga Yisaaka bwe yali. Era okufaanana nga bwe kyali mu kiseera kiri, oyo eyazaalibwa mu ngeri eyaabulijjo, bwe yayigganya eyazaalibwa olwa Mwoyo wa Katonda, ne kaakano bwe kiri. Naye ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Goba omuzaana n'omwana we, kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'ow'ow'eddembe.” Kale, abooluganda, ffe tetuli baana ba muzaana, wabula ba wa ddembe. Kristo yatufuula ba ddembe. Kale munywere, muleme okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu. Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwa, kitegeeza nti Kristo taliiko ky'abagasa. Era ntegeeza buli muntu akomolebwa nti ateekwa okutuukiriza ebyo byonna Amateeka bye galagira. Mmwe abaagala okuba abatuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, mwesaze ku Kristo, era mweggye ku kisa kya Katonda. Naye ffe tusuubira nti Katonda alitufuula abatuukirivu, era ekyo kye tulindirira olw'amaanyi ga Mwoyo wa Katonda akolera mu kukkiriza kwaffe. Bwe tuba nga twegasse ne Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekiriiko kye kifuula. Ekikulu kwe kukkiriza, okukolera mu kwagala. Mwali bulungi. Ani eyabaziyiza okugondera amazima? Okusendasenda okwo, si kwa Katonda abayita. Ekizimbulukusa ekitono, kizimbulukusa ekitole kyonna. Naye neesiga Mukama nti mujja kulowooza nga nze, era nti oyo abateganya ne bw'aba ani, alibonerezebwa. Naye nze, abooluganda, oba nga nkyayigiriza abantu nti okukomolebwa kwetaagibwa, lwaki nkyayigganyizibwa? Singa ddala njigiriza ekyo, olwo omusaalaba guba tegukyali kyesittazo. Nandyagadde abo ababateganya beeraawe! Abooluganda, mmwe mwayitibwa kuba ba ddembe. Kyokka muleme kufugibwa kwegomba kwa mubiri, nga mwesiga eddembe eryo, wabula mwagalanenga, era buli omu abeerenga muweereza wa munne. Amateeka gonna gatuukirizibwa mu kiragiro kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.” Naye oba nga mulumagana era mulyaŋŋana, mwekuume, sikulwa nga mwezikiriza. Naye ŋŋamba nti mugobererenga Mwoyo, lwe mutaatuukirizenga ebyo omubiri bye gwegomba. Ebyo omubiri bye gwegomba birwanagana n'ebyo Mwoyo by'ayagala. Ate ebyo Mwoyo by'ayagala, birwanagana n'ebyo omubiri bye gwegomba. N'ekivaamu, ne mutasobola kukola ebyo bye mwagala. Naye bwe munaagobereranga Mwoyo, olwo nga temukyafugibwa Mateeka. Ebikolwa by'omubiri bimanyiddwa bulungi, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, okusinza ebitali Katonda, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, obutakkaanya, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebirala ebiri ng'ebyo. Ne kaakano nnyongera okubalabula, nga bwe nabalabula okusooka, nti abo abakola ebifaanana ng'ebyo, tebaliba na mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda. Naye Mwoyo aleeta kwagala, kusanyuka, mirembe, kugumiikiriza, kisa, bulungi, bwesigwa, buwombeefu, na kwegendereza. Ebyo tebiriiko tteeka libiwakanya. Era abo aba Kristo Yesu, baakomerera ku musaalaba omubiri gwabwe n'omululu gwagwo, n'okwegomba kwagwo. Oba nga Mwoyo ye atuwa obulamu, Mwoyo ye abanga atufuga. Tulemenga okwenyumiriza, wadde buli omu okusosonkereza munne, n'okumukwatirwa obuggya. Abooluganda, bwe wabangawo agudde mu kibi, mmwe abafugibwa omwoyo, muyambenga omuntu oyo nga muli bakkakkamu. Mwekuumenga, sikulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. Mugumiikirizaganenga, kubanga bwe mukola bwe mutyo, muba mutuukirizza etteeka lya Kristo. Omuntu bwe yeerowooza ng'aliko bw'ali, sso nga taliiko bw'ali, aba yeerimbalimba. Kyokka buli omu akeberenga ebikolwa bye, alyoke alabe oba nga mu ye mulimu ekimwenyumirizisa, nga teyeegeraageranya na mulala, kubanga buli omu alyetikka mugugu gwe. Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, atoole ku bibye by'alina, aweeko amuyigiriza. Temulimbibwanga, Katonda tabuzaabuzibwa: omuntu ky'asiga era ky'alikungula. Asiga mu mubiri gwe, mu mubiri mw'alikungula okufa. Kyokka oyo asiga mu Mwoyo, mu Myoyo mw'alikungula obulamu obutaggwaawo. Kale tuleme okukoowa mu kukolanga obulungi, kubanga bwe tutaddirira, ekiseera kirituuka ne tukungula. Kale nga bwe tulina ebbanga, tukolerenga abantu bonna ebirungi, naddala abo bwe tuli awamu mu kukkiriza. Mulabe bwe mbawandiikidde n'omukono gwange mu nnukuta ennene. Abo abaagala okwenyumiririza mu byokungulu, be baagala okubawaliriza okukomolebwa. Bakikola balyoke baleme kuyigganyizibwa olw'omusaalaba gwa Kristo. N'abo abakomolebwa, tebagoberera ebyo Amateeka bye galagira, wabula baagala mukomolebwe, bo balyoke beenyumirize olw'okukomolebwa kwammwe. Nze sigenda kwenyumiriza n'akatono, okuggyako okwenyumiririza mu musaalaba gwa Kristo. Olw'omusaalaba ogwo, ensi ngiraba ng'ekomereddwa, nayo endaba ng'omukomerere. Oba ng'omuntu akomolebwa oba takomolebwa, ekyo si nsonga, wabula ekyetaagibwa kwe kufuuka ekitonde ekiggya. Emirembe n'okusaasira bibeerenga ku bantu ba Katonda, abo bonna abagoberera ekiragiro kino. Okuva kaakano tewabanga muntu n'omu anteganya, kubanga enkovu ze nnina ku mubiri gwange za Yesu, Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe, abooluganda. Amiina. Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, mpandiikira abantu ba Katonda abali mu Efeso, era abeesigwa mu Kristo Yesu. Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe. Ka twebaze Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuweera mu Kristo buli mukisa oguva mu ggulu, ogugasa omwoyo. Katonda, ng'ayita mu Kristo yali yamala dda okutulonda nga n'ensi tennatondebwa, tube batukuvu, era abataliiko kamogo mu maaso ge. Olw'okutwagala, yatufuula baana be, ng'ayita mu Yesu Kristo, nga bwe yateesa mu kusiima kwe, tulyoke tumutendereze olw'ekirabo kye ekyekitiibwa, kye yatuweera mu Mwana we omwagalwa. Olw'okufa kwa Kristo, tununulibwa ne tusonyiyibwa ebibi byaffe olw'ekisa kya Katonda ekingi ennyo kye yatukwatirwa. Katonda mu magezi ge ne mu kutegeera kwe, yatumanyisa ekyama eky'okwagala kwe, kye yali yategeka edda okutuukiriza mu Kristo. Entegeka ye gy'alituukiriza ng'ekiseera kyayo kituuse, kwe kugatta awamu mu Kristo ebintu byonna, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, Kristo abe omutwe gwabyo. Mu Kristo mwe twalonderwa ne twawulibwa okuba abantu ba Katonda, kubanga eyo ye yali entegeka ya Katonda akola byonna nga bw'asiima, ffe abaasooka okuba n'essuubi mu Kristo, tulyoke tutendereze ekitiibwa kya Katonda. Era mu Kristo nammwe mwawulira ebigambo eby'amazima, ge Mawulire Amalungi ag'okulokolebwa kwammwe. Mwakkiriza Kristo, era ekiraga nti muli babe, Katonda yabassaako akabonero, ng'abawa Mwoyo Mutuukirivu gwe yasuubiza. Mwoyo Mutuukirivu oyo ye atukakasa nti Katonda bw'alimala okununula abantu be, tulifuna ebyo Katonda bye yatusuubiza, tutendereze ekitiibwa kye. N'olwekyo, okuva lwe nawulira nti mukkirizza Mukama Yesu, era nti mwagala abantu ba Katonda bonna, sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe oweekitiibwa, abawe Mwoyo Mutuukirivu abageziwaze, era abamanyise Katonda, mumutegeere. Nsaba, emyoyo gyammwe gyeyongere amagezi, mumanye ebyo Katonda bye yabasuubiza bwe mwayitibwa, era mumanye n'obugagga obungi, abantu be bwe bafuna. Era nsaba mumanye amaanyi ge amasukkirivu, agakolera mu ffe. Amaanyi ago, geego gennyini agaazuukiza Kristo, ne gamutuuza mu ggulu, ng'aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, n'afuga abafuzi n'ab'obuyinza, n'ab'amaanyi, era n'abakungu bonna, si mu bulamu buno bwokka, naye ne mu obwo obugenda okujja. Katonda yassa ebintu byonna mu buyinza bwa Kristo, n'amufuula omukulembeze ow'oku ntikko ow'ekibiina ky'abamukkiriza. Ekibiina ekyo gwe mubiri gwa Kristo ogumufuula atuukiridde, ye yennyini atuukiriza byonna wonna. Nammwe mwali mufiiridde mu bujeemu ne mu bibi byammwe. Mwagobereranga empisa embi ez'ensi, nga mufugibwa omwoyo gw'omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, ogwo kati ogufuga abo abajeemera Katonda. Naffe ffenna twali bajeemu nga bo, nga tutwalibwa okwegomba kwaffe okubi okw'omubiri, era nga tukola ebyo omubiri n'amagezi gaffe bye byagala. Okufaanana ng'abantu abalala bonna, naffe twali tuteekwa buteekwa okubonerezebwa Katonda. Kyokka Katonda ow'ekisa ekingi era atwagala ennyo, bwe twali nga tufiiridde mu bujeemu bwaffe, yatuzuukiza wamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda. Nga tuli mu Kristo Yesu, Katonda yatuzuukiza wamu naye, era n'atutuuza wamu ne Kristo oyo mu ggulu. Yakola ekyo alyoke alage mu mirembe egigenda okujja, obulungi bwe n'ekisa kye ekingi ennyo, kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu, kubanga bwe mwakkiriza, mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda. Okulokolebwa kwammwe tekwava ku mmwe, wabula kyali kirabo kya Katonda. Tekwava mu bikolwa byammwe ebirungi, waleme kubaawo yeenyumiriza. Katonda ye yatutonda ne tuba nga bwe tuli, twatonderwa mu Kristo Yesu, tukolenga ebikolwa ebirungi, Katonda bye yatuteekerateekera okukolanga. Mmwe abaazaalibwa nga muli ba mawanga malala, Abayudaaya be bayita abatali bakomole (kubanga bo beeyita bakomole, abakomolebwa abantu) mujjukire bwe mwali mu biseera ebyayita. Olwo temwalina Kristo. Mwali Bannamawanga, nga temubalirwa mu ggwanga lya Yisirayeli. Era temwalina mugabo mu ndagaano ezirimu ebyo Katonda bye yasuubiza. Mwali mu nsi nga temulina ssuubi, era nga temulina Katonda. Naye kaakano, olw'okwegatta awamu ne Kristo Yesu, mmwe edda abaali batwesudde ewala, mwaleetebwa kumpi olw'okufa kwa Kristo. Kristo ye yatuleetera emirembe ne tuba omuntu omu, bwe yawaayo omubiri gwe, n'amenyawo ekisenge eky'obulabe ekyatwawulanga. Yadibya etteeka ly'Abayudaaya ne byonna bye lyalagiranga, alyoke afuule Abayudaaya n'ab'amawanga amalala eggwanga limu eriggya, eryegattidde mu ye yennyini, bw'atyo n'aleeta emirembe. Yafiira ku musaalaba alyoke amalewo obulabe, era atukomyewo ffenna eri Katonda, nga tuli omuntu omu. Mmwe abaali ewala, Kristo yajja n'abategeeza Amawulire Amalungi ag'emirembe, n'agategeeza n'abo abaali okumpi. Ffenna tuyita mu ye, nga tuli mu Mwoyo omu, ne tusobola okutuuka mu maaso ga Kitaffe. N'olwekyo temukyali Bannamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n'abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. Mwazimbibwa ku musingi, be batume n'abalanzi, nga Kristo lye jjinja ekkulu ery'entabiro. Mu ye ekizimbe kyonna mwe kinywerera, ne kikula, ne kiba essinzizo ettukuvu erya Mukama. Era mu ye, mmwe naffe Mwoyo atuzimba, ne tuba ekisulo kya Katonda. Olw'ensonga eyo, nze Pawulo omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga amalala, mbasabira eri Katonda. Ndowooza mwawulira nga Katonda yankwasa omulimu ogw'okubategeeza mmwe ebifa ku kisa kye, era nga yandaga ekyama kye, nga bwe nawandiika mu bimpimpi. Bwe munaasoma bye nawandiika, munaamanya nga bwe ntegeera ekyama kya Kristo. Mu mirembe egy'edda, abantu tebaategeezebwa kyama kino, naye kaakano Katonda akibikkulidde abatume be abatukuvu n'abalanzi, ng'ayita mu Mwoyo Mutuukirivu. Ekyama kye kino nti olw'Amawulire Amalungi, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala balina ebisaanyizo bye bimu. Bonna bye bitundu eby'omubiri ogumu, era bagabanira wamu ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu Kristo Yesu. Katonda olw'ekisa kye, yampa ekirabo, amaanyi ge ne gakola mu nze, n'anfuula omuweereza w'Amawulire Amalungi. Nze asembayo mu bantu ba Katonda bonna, Katonda yampa omukisa guno okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi ag'obugagga bwa Kristo obutaggwaawo. Era yampa omukisa okumanyisa abantu bonna ebifa ku kyama kino, Katonda eyatonda byonna kye yali akisizza okuva edda n'edda lyonna. Kaakano ng'ayita mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ayagala amanyise abafuzi n'ab'obuyinza abali mu ggulu, amagezi ge agatakoma. Ekyo yakiteekateeka okuva edda n'edda lyonna, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe. Olw'okwegatta awamu ne Kristo oyo, era n'olw'okumukkiriza, tuguma ne tusembera eri Katonda nga tetutya. Kyenva mbeegayirira, muleme kuterebuka olw'okulaba nga mbonaabona ku lwammwe, kubanga okubonaabona kwange okwo, mmwe kubaweesa kitiibwa. Kyenva nfukaamirira Katonda Kitaffe, ebika byonna eby'omu ggulu n'eby'oku nsi mwe bisibuka, ne mmusaba ye oweekitiibwa ekingi, abajjuze mmwe amaanyi aga Mwoyo we, Kristo alyoke abeere mu mitima gyammwe, olw'okukkiriza kwe mulina. Mubeerere ddala mu kwagala, era mukunywereremu, mmwe awamu n'abantu ba Katonda bonna, musobole okutegeerera ddala obugazi, n'obuwanvu, n'obugulumivu, n'okukka wansi eby'okwagala kwa Kristo. Nsaba mumanye okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke mujjulire ddala Katonda. Katonda oyo ayinza okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza, olw'amaanyi ge agakolera mu ffe, aweebwe ekitiibwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ne mu Kristo Yesu, kaakano ne mu mirembe egitaggwaawo. Amiina. Nze eyasibibwa olwa Mukama, kyenva mbeegayirira mmwe, mube n'empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa. Mube bakkakkamu, bawombeefu era bagumiikiriza. Mulage okwagalana kwammwe, nga buli omu agumiikiriza munne. Mwoyo Mutuukirivu yabafuula omu. Mufube okunywerera mu mirembe egibagatta awamu. Omubiri guli gumu, ne Mwoyo omu, ng'ekyo kye mwayitirwa era kye musuubira bwe kiri ekimu. Mukama ali omu, n'okukkiriza kumu, n'okubatizibwa kumu, Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna, era abeera mu byonna. Kyokka buli omu mu ffe yaweebwa ekirabo ekyenjawulo, nga Kristo bwe yamugerera. Ekyawandiikibwa kyekiva kigamba nti: “Bwe yalinnya mu ggulu, yatwala abasibe, n'awa abantu ebirabo.” Okugamba nti yalinnya, kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w'ensi. Oyo eyakka, ye wuuyo eyalinnya ewala ennyo, n'ayisa eggulu lyonna, alyoke ajjuze byonna. Era ye omu oyo eyawa abamu okuba abatume, abalala okuba abalanzi, abalala okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, abalala okuba abasumba b'emyoyo, n'abalala okuba abayigiriza. Ekyo yakikola olw'okutendeka abantu ba Katonda mu mulimu gw'okuweereza, era n'okuzimba omubiri gwa Kristo, okutuusa ffenna lwe tulibeera n'okukkiriza okumu, n'okumanya Omwana wa Katonda, tube bakulu mu by'omwoyo, abatuukiridde mu bulamu bwa Kristo. Olwo nga tetukyali baana bato, abazzibwa eno n'eri, abatwalibwa mu muyaga gw'enjigiriza y'abantu abakuusa, abakyamya abalala olw'enkwe ze basala. Naye tube ba mazima era abaagalana, tulyoke tukule mu byonna okutuuka ku kwegattira ddala ne Kristo, omutwe gwaffe. Kristo oyo ye aleetera omubiri gwonna okwegatta awamu, ennyingo ezigulimu zonna ne zinywezebwa, buli kitundu ne kikola omulimu gwakyo. Olwo omubiri ne gukula, ne guzimbibwa mu kwagalana. Kale kye ŋŋamba, era kye ntegeeza mu linnya lya Mukama kye kino, nti mulekere awo okuyisa ng'abantu ab'ensi bwe bayisa, nga bagoberera ebirowoozo byabwe ebitaliimu. Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by'obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya, era emitima gyabwe mikakanyavu. Tebakyalina nsonyi. Beemalidde mu bya buwemu, era balina omululu ogw'okukola eby'obugwenyufu ebya buli ngeri. Kyokka mmwe, Kristo temwamuyiga bwe mutyo. Ddala mwawulirako, era mmwe ng'ababe, mwayigirizibwa amazima agali mu Yesu. Kale muleme kuba bantu ab'embeera ey'edda gye mwalimu, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba. Mufuuke baggya mu mwoyo ne mu birowoozo byammwe. Mube bantu baggya, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu bwesimbu ne mu butukuvu obw'amazima. N'olwekyo, muleke obulimba. Buli muntu ategeezenga munne amazima, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu. Bwe wabaawo ekibasunguwaza, mwekuume kireme kubakozesa kibi. Temuzibyanga budde nga mukyasibye obusungu, era temwereeterezanga Sitaani. Abadde abba, alekere awo okubba, wabula anyiikire okukola emirimu, ng'akozesa emikono gye, alyoke abe ne ky'awa abo abeetaaga. Akamwa kammwe kalemenga okwogera ekigambo ekibi ekitasaana, wabula koogerenga ebyo byokka ebirungi ebizimba era ebisaana, biryoke bigase abo ababiwulira. Era temunakuwazanga Mwoyo Mutuukirivu wa Katonda, kubanga Mwoyo ke kabonero kwe mulimanyirwa ku lunaku olw'okununulibwa. Okunyiiga, okusunguwala, okukaayana, okuvuma, na buli bubi bwonna, bibavengamu. Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mmwe mu Kristo. Kale nga bwe muli abaana ba Katonda, mugezengako okumufaanana, era mwagalanenga, nga Kristo bwe yatwagala, ne yeewaayo eri Katonda ku lwaffe, okuba ekirabo era ekitambiro ekiwunya obulungi. Muli bantu ba Katonda, n'olwekyo obwenzi n'obugwagwa bwonna, n'okwegomba okubi tebisaana na kwogerebwa mu mmwe. Era temusaanira kwogera bya nsonyi, wadde eby'obusiru oba okubalaata, wabula mwebazenga Katonda. Mumanyire ddala kino nti omwenzi, wadde akola eby'ensonyi oba alulunkanira eby'ensi, n'abifuula Katonda we, talina mugabo mu Bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. Walemenga kubaawo ababuzaabuza n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebikolwa ebyo, obusungu bwa Katonda bukola ku bantu abajeemu N'olwekyo temwegattanga nabo. Edda mwali ba kizikiza, naye kaakano nga bwe muli aba Mukama, muli ba kitangaala. Kale mutambulenga ng'abantu ab'ekitangaala, kubanga mu kitangaala mwe muva obulungi bwonna obutuufu n'amazima. Mufubenga okumanya ekisanyusa Mukama. Temwegattanga n'abo abakolera mu kizikiza ebyo ebitalina mugaso, wabula mubyatuukirizenga bwatuukiriza, kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama. Byonna bwe bimala okwatuukirizibwa mu kitangaala, birabikira ddala nga bwe biri, kubanga ekyo ekiragibwa, kirabibwa. Kyebava bagamba nti: “Zuukuka ggwe eyeebase, ozuukire, Kristo akwakire.” Kale mubenga beegendereza mu bulamu bwammwe, muleme kuba ng'abatalina magezi, wabula mube ba magezi. Muleme kwonoona biseera, kubanga ennaku zino mbi. N'olwekyo temuba balagajjavu, wabula mutegeere Mukama ky'ayagala. Era muleme kutamiira mwenge, kubanga mujja kweyonoona, wabula mujjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu. Munyumizaganyenga mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya. Muyimbire Mukama, nga musaakaanya amaloboozi n'omutima gwammwe gwonna. Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, nga muyita mu Mukama waffe Yesu Kristo. Muwuliraganenga olw'okussaamu Kristo ekitiibwa. Abakazi muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama, kubanga omusajja gwe mutwe gw'omukazi, nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekibiina ky'abamukkiriza, gwe mubiri gwe, era ye yennyini ye mulokozi waagwo. Nga ekibiina ky'abakkiriza Kristo bwe kiwulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bwe basaana okuwulira babbaabwe mu byonna. Mmwe abasajja mwagalenga bakazi bammwe, nga Kristo bwe yayagala ekibiina ky'abamukkiriza, ne yeewaayo ku lwakyo, akitukuze, ng'akinaaza n'amazzi n'ekigambo, alyoke yeefunire ekibiina ky'abamukkiriza ekyekitiibwa, nga tekiriiko bbala na kamogo, wadde ekintu ekirala ekiri ng'ebyo. N'abasajja bwe batyo bwe basaana okwagala bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Tewali n'omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa, agujjanjaba, nga Kristo bw'ajjanjaba ekibiina ky'abamukkiriza, kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. N'ekyawandiikibwa kigamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n'anywerera ku mukazi we, bombi ne baba omuntu omu.” Ekyama kino kikulu, era nze ŋŋamba nti kyogera ku Kristo n'ekibiina ky'abamukkiriza. Naye era nammwe, buli musajja ayagalenga mukazi we, nga bwe yeeyagala yennyini, era n'omukazi assengamu bba ekitiibwa. Abaana, bazadde bammwe mubawulirenga mu Mukama, kubanga ekyo kye kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” kye kiragiro ekisooka, ekirimu okusuubiza nti: “lw'onoobanga obulungi, era n'owangaala ku nsi.” Mmwe abazadde b'abaana muleme kunyiizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula, era nga mubayigiriza ebya Mukama. Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubawulirenga nga temuliimu bukuusa, nga bwe muwulira Kristo. Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula ekyo Katonda ky'ayagala, mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abaddu ba Kristo. Muweerezenga n'omutima omulungi ng'abakolera Mukama, sso si ng'abakolera abantu. Mumanye nti buli muntu, oba muddu, oba wa ddembe, buli kirungi ky'akola, Mukama ky'alimusasula. Nammwe bakama b'abaddu muyisenga bwe mutyo abaddu bammwe mu mwoyo gwe gumu,nga temubatiisa. Mumanyi nti Mukama waabwe, era owammwe ali mu ggulu, era ye tasosola mu bantu. Eky'enkomerero, mube bagumu mu Mukama waffe, munywezebwe obuyinza bw'amaanyi ge. Mukozesenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okuziyiza enkwe za Sitaani. Tetulwanyisa bantu buntu, wabula tulwanyisa amagye g'emyoyo emibi egy'omu bbanga, egy'abakungu, egy'ab'obuyinza, n'egy'abafuzi ab'omu nsi eno ey'ekizikiza. N'olwekyo mukwatenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, musobole okuguma ku lunaku olw'akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli bagumu. Kale muyimirire nga mwenywezezza, ng'amazima lwe lukoba lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng'okukola ebituufu, kye kyambalo kyammwe eky'ekyuma eky'omu kifuba. Okwetegeka kwammwe kubabeerere ng'engatto mu bigere byammwe, nga mugenda okulangirira Amawulire Amalungi, agaleeta emirembe. Okusinga byonna, okukkiriza kubabeerere engabo eneebasobozesanga okuziyiza obusaale bwonna obw'omuliro, obulasibwa Omubi. Era mwetikkire obulokozi nga ye nkuufiira yammwe eŋŋumu, mukwate n'ekitala eky'omwoyo, kye kigambo kya Katonda. Bulijjo musabenga Katonda, nga mumwegayirira abayambe. Mumusabenga nga Mwoyo bw'anaabaluŋŋamyanga. Ekyo mukikolenga nga temuterebuka, musabirenga abantu ba Katonda bonna. Nange munsabire, bwe nnaabanga njogera, mpeebwe eby'okwogera, era mbyogere n'obuvumu, nga mmanyisa abantu ekyama ky'Amawulire Amalungi. Ndi mubaka w'Amawulire ago Amalungi newaakubadde nga ndi mu kkomera. Munsabire mbe n'obuvumu mu kugamanyisa abantu nga bwe kinsaanira. Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa owa Mukama, alibategeeza byonna, mulyoke mumanye ebinfaako ne bye nkola. Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye bwe tuli, era abagumye emitima. Emirembe n'okwagala, awamu n'okukkiriza, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo, bibeerenga n'abooluganda bonna. Katonda akwatirwenga ekisa abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo, emirembe n'emirembe. Nze Pawulo ne Timoteewo abaweereza ba Kristo Yesu, tuwandiikira mmwe abantu ba Katonda abali e Filippi, abassa ekimu ne Kristo Yesu. Era tuwandiikira n'abalabirizi awamu n'abaweereza. Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa era babawe emirembe. Neebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, era buli lwe mbasabira mwenna eri Katonda, nsaba nga ndi musanyufu, kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n'okutuusa kaakano, mwetaba wamu nange mu kubunyisa Amawulire Amalungi. Nkakasiza ddala nti Katonda eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, alyongera okugukola, okutuusa lwe gulimalirizibwa ku lunaku Kristo Yesu lw'aliddirako. Kino kituufu nze okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga temunva ku mutima, olw'okubanga mwenna mugabana wamu nange ekisa Katonda kye yankwatirwa mu kusibibwa kwange, ne mu kulwanirira n'okunyweza Amawulire Amalungi. Katonda amanyi nga njogera mazima bwe ŋŋamba nti mwenna mbaagala n'okwagala okuva eri Kristo Yesu. Kye mbasabira eri Katonda kye kino, okwagala kwammwe kweyongerenga, kujjule amagezi n'okutegeera, mulyoke musobole okulondawo ekisinga obulungi, olunaku Kristo lw'aliddirako bwe lulituuka, lubasange nga muli balongoofu, abataliiko kamogo, nga mujjudde ebikolwa ebirungi, Yesu Kristo yekka by'ayinza okubakozesa olw'okuweesa Katonda ekitiibwa n'okumutendereza. Abooluganda, njagala mumanye nti ebyo ebyantuukako, byongera bwongezi kubunyisa Amawulire Amalungi. N'ekivuddemu, abaserikale abakuumi b'omu lubiri bonna era n'abalala bonna, bategedde nti ndi mu kkomera lwa kubanga ndi mugoberezi wa Kristo. Era olw'okusibibwa kwange, abooluganda abasinga obungi beeyongedde okwesiga Mukama, n'okuba n'obuvumu okwogera ekigambo kya Katonda nga tebatya. Weewaawo abamu bamanyisa Kristo mu bantu lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nateekebwawo lwa kulwanirira Amawulire Amalungi. Naye bali, Kristo bamumanyisa mu bantu lwa kuvuganya, sso si mu mwoyo mulungi. Balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu. Naye nze nfaayo ki? Kristo kasita amanyisibwa mu bantu mu ngeri zonna, oba za bukuusa, oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi. Era nja kweyongera okusanyuka, kubanga mmanyi nti mmwe olw'okunsabira, n'olw'obuyambi bwa Mwoyo wa Yesu Kristo, nditeebwa. Neesiga era nsuubirira ddala nti sijja kuswala, wabula ne kaakano nja kuguma nga bulijjo, nkole kyonna kye nsobola okugulumiza Kristo, oba mba mulamu, oba nfa. Nze mba mulamu lwa Kristo, era bwe nfa, mba ngobolodde. Naye oba nga bwe nsigala nga ndi mulamu mu mubiri lwe nkola ekisinga okugasa, olwo mba simanyi kye nsaana kulondawo. Nkwatiddwa eruuyi n'eruuyi. Neegomba okuva mu bulamu buno, ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kye kisingira ddala obulungi. Naye okusigala nga nkyali mulamu mu mubiri, kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe. Ekyo nkikakasa, era mmanyi nti nja kuba nga nkyaliwo, nga ndi nammwe mwenna, mulyoke mweyongere okusanyuka n'okukula mu kukkiriza. Bwe ndikomawo gye muli, mulyeyongera okwenyumiririza mu Kristo ku lwange. Naye kyokka obulamu bwammwe bube nga bwe kisaanira Amawulire Amalungi aga Kristo. Ne bwe ndiba nzize oba nga sizze kubalaba, njagala mpulire nti munywedde, mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw'Amawulire Amalungi. Temutya balabe bammwe. Mubeere bazira bulijjo, balyoke bamanye nti bo Katonda ajja kubazikiriza, kyokka mmwe abawonye, kubanga mwaweebwa omukisa, si kukkiriza Kristo kwokka, wabula n'okubonaabona ku lulwe. Nammwe muli ku lutalo lwe lumu, lwe mwalaba, era lwe muwulira nti nkyalwana. Okuba aba Kristo kibawa amaanyi? Okwagala kwe kubasanyusa? Mussa kimu ne Mwoyo Mutuukirivu? Mukwatirwagana ekisa, era musaasiragana? Kale munzijuze essanyu nga mussa kimu, nga mwagalana, nga mulina omwoyo gumu, era nga mukkiriziganya. Temukolanga kintu na kimu mu kwepanka, wadde mu kwefaako mwekka, wabula mukolenga byonna mu bwetoowaze, nga temulowooza nti mmwe musinga abalala. Temufanga ku byammwe byokka, naye mufenga ne ku by'abalala. Mubenga n'endowooza nga Kristo gye yalina: Yalina obulamu obw'Obwakatonda, kyokka teyalemera ku kwenkanankana ne Katonda, wabula yeggyako ekitiibwa, n'afuuka omuweereza. Yeefuula omuntu nga ffe. Era bwe yessa ku mutindo gw'abantu, ne yeetoowaza, n'aba muwulize n'atuukira ddala ku kufa, ate okufa okw'oku musaalaba. Katonda kyeyava amugulumiza ennyo, n'amuwa erinnya erisinga amannya gonna, bonna abali mu ggulu, n'abali ku nsi, era n'abali wansi w'ensi balyoke bafukaamirirenga erinnya lya Yesu, era bonna baatulenga nti Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa. Kale abaagalwa, nga bwe mwali abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe, mube bawulize nnyo n'okusinga bwe mwali. Mmwe mwennyini mukolererenga okulokolebwa kwammwe, nga mutya era nga mukankana, kubanga Katonda ye akolera mu mmwe okubaagazisa n'okubasobozesa okukola by'ayagala. Byonna mubikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, mulyoke mube nga temulina musango, wadde kye munenyezebwa, mube baana ba Katonda abatalina bbala, nga muli mu nsi ejjudde abantu ababi era aboonoonefu. Muteekwa okulabika mu bo nga muli ng'emmunyeenye ezimulisa eggulu, nga mubatuusaako ekigambo ky'obulamu. Bwe munaakolanga bwe mutyo, ndiba n'eky'okwenyumiriza ku lunaku Kristo lw'aliddirako, kubanga ekyo kiriraga nti okufuba n'okukola kwange tebyafiira bwereere. Singa omusaayi gwange guyiibwa ne gutabulwa n'ekitambiro kye muwa Katonda, kwe kukkiriza kwammwe, nsanyuka ne neesiima wamu nammwe mwenna. Era nammwe muteekwa okusanyuka bwe mutyo, n'okwesiima awamu nange. Mukama Yesu Kristo bw'alyagala, nsuubira okubatumira mangu Timoteewo, ndyoke ŋŋume omwoyo olw'okutegeera ebibafaako. Sirina mulala asobola kubalumirwa nnyo nga ye. Abalala bonna bafa ku byabwe byokka, tebafa ku bya Yesu Kristo. Kyokka Timoteewo mumumanyi nti asaana. Mumanyi bw'aweereza awamu nange, ng'ali ng'omwana akola ne kitaawe, nga tukola omulimu gw'okubunyisa Amawulire Amalungi. Kale oyo gwe nsuubira okutuma gye muli, amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. Era nkakasa nti Mukama bw'alisiima, nange nzennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja gye muli. Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuradito gwe mwantumira okunnyamba mu byetaago byange, era gwe nkola naye, nga tulwanira wamu. Ayagala nnyo okubalabako mwenna, kyokka yanyolwa nnyo bwe yamanya nti mwawulira bwe yalwala. Ddala yalwala, era yali kumpi okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira, obulumi bwange ne buteeyongerako. Kyenva njagala ennyo okumutuma gye muli, mulyoke musanyuke okuddamu okumulabako, nange ndyoke nkendeeze ku kunakuwala kwange. Kale mumwanirize n'essanyu lingi ng'owooluganda mu Mukama waffe. Abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa, kubanga yabulako katono okufa, ng'ali ku mulimu gwa Kristo, bwe yawaayo obulamu bwe, alyoke annyambe ku lwammwe. Kale kaakano baganda bange, musanyukirenga mu Mukama. Okuddamu ebyo bye nabawandiikira edda tekunkooya, ate mmwe kwongera kubanyweza. Mwekuumenga ab'empisa embi, era abakomola omubiri obubiri, be mpita embwa. Ffe bakomolebwa abutuufu, kubanga tusinza Katonda nga Mwoyo we bw'atulaga, era twenyumiririza mu Yesu Kristo. Tetwesiga bikolebwa bukolebwa ku mubiri. Ne bwe kwandibadde okwesiga ebikolebwa obukolebwa ku mubiri, nze mbasinga abo. Nze nakomolebwa ku lunaku olw'omunaana okuva ku kuzaalibwa kwange. Eggwanga lyange, ndi Muyisirayeli, ow'omu Kika kya Benyamiini. Ndi Mwebureeyi wawu, omwana w'Abeebureeyi. Nali mu kibiina ekisinga okukwata amateeka g'Ekiyudaaya, kye ky'Abafarisaayo. Mu kunyiikira, nayigganya ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, era mu kukwata amateeka g'Ekiyudaaya, saaliko kye nnenyezebwamu. Naye ebyo byonna ebyali eby'omugaso gye ndi, nabiraba ng'okufiirwa olwa Kristo. Ddala ebintu byonna nabiraba ng'okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Mukama wange, kisinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng'ebisasiro olw'okufuna Kristo ng'empeera yange, ndyoke mbeere mu ye, nga sirina butuukirivu bwange ku bwange, obuva mu kukwata amateeka g'Ekiyudaaya, wabula nga nnina obwo obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda, obwesigamye ku kukkiriza. Kye njagala kwe kutegeera Kristo era n'okutegeera amaanyi agava mu kuzuukira kwe. Njagala okugabana ku kubonaabona kwe, era n'okumufaanana mu kufa kwe, nga nsuubira nti nange ndizuukira. Sigamba nti ekyo mmaze okukifuna, oba nti mmaze okutuukirira, wabula ŋŋenda mu maaso, nga ngezaako okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera mu kunfuula owuwe. Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola, kwe kwerabira eby'emabega, ne nduubirira ebiri mu maaso. Ŋŋenda mu maaso, ntuuke ku kiruubirirwa, awali ekirabo eky'obulamu obw'omu ggulu, Katonda kye yampitira mu Kristo Yesu. Kale ffe abakuze mu kukkiriza, ekyo kye tuba tulowoozanga. Naye oba kye mulowooza kirala, na kino Katonda alikibalaga. Naye tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko. Abooluganda, mungobererenga mwenna, era mugobererenga abo abalina empisa ng'ezaffe. Ekyo nkibabuulidde emirundi mingi, era kaakano nkiddamu nga nkaaba n'amaziga, nti waliwo bangi, mu mbeera z'obulamu bwabwe, abafuuse abalabe b'omusaalaba gwa Kristo. Enkomerero yaabwe, kuliba kuzikirira. Olubuto ye Katonda waabwe, ebyandibakwasizza ensonyi bye beenyumiririzaamu, n'ebirowoozo byabwe babimalidde ku bya nsi. Naye ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era eyo Omulokozi, Mukama Yesu Kristo gye tumulindirira okuva. Emibiri gyaffe eminafu egifa, aligifuula ng'ogugwe ogwekitiibwa, ng'akozesa amaanyi agamusobozesa n'okussa ebintu byonna mu buyinza bwe. Kale baganda bange be njagala ennyo, era be nnumirwa, mmwe ssanyu lyange, era mmwe ngule yange. Abaagalwa, munywererenga bwe mutyo mu Mukama. Neegayirira Ewudiya ne Suntuke basse kimu mu Mukama. Era nsaba ggwe mukozi munnange omwesigwa, oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw'okubunyisa Amawulire Amalungi. Abo awamu ne Kelementi, era n'abakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky'obulamu. Musanyukirenga mu Mukama bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. Abantu bonna bamanye nga bwe muli abakkakkamu, Mukama ali kumpi okujja. Temweraliikiriranga kintu na kimu, naye byonna mubitegeezenga Katonda, nga mumusaba, nga mumwegayirira era nga mumwebaza. Emirembe gya Katonda egisukkiridde okutegeera kwaffe, ginaakuumanga emitima gyammwe n'emyoyo gyammwe, nga biri wamu ne Yesu Kristo. Abooluganda eky'enkomerero, ebyo byonna eby'amazima, ebissibwamu ekitiibwa, ebituufu, ebirongoofu, ebyagalibwa, n'eby'ettendo, bye muba mulowoozangako. Ebyo bye nabayigiriza ne bye nabawa, ebyo bye mwawulira njogera, ne bye mwalaba nkola, era bye mubanga mukola, bye mubanga mutambuliramu, olwo Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe. Nfunye essanyu lingi mu Mukama, kubanga kaakano, nga wamaze okuyitawo ebbanga ddene, muzzeemu okunfaako. Kya mazima mwali munfaako, naye mwali temulina bbanga. Njogera kino si lwa kuba nti ndiko kye neetaaga, kubanga nayiga obutajulirira kantu mu buli mbeera gye mbaamu. Mmanyi okuba omwavu, era mmanyi okuba omugagga. Mu buli ngeri, ne mu mbeera zonna, nayiga okukkuta n'okulumwa enjala, okuba n'ebingi n'obutaba na kantu. Nnyinza okugumira byonna olw'amaanyi ga Kristo g'ampa. Kyokka mwakola bulungi okunziruukirira mu kubonaabona kwange. Era mmwe ab'e Filippi mumanyi nti bwe natandika okutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga nva e Makedooniya, tewaali kibiina ky'abakkiriza Kristo na kimu ekyampaayo akantu olw'ebyo bye kyafuna, okuggyako mmwe mwekka. Era ne bwe nali mu Tessalonika, mwampeereza ebyokunnyamba, si mulundi gumu, wabula ebiri. Ekirabo si kye njagala, naye kye njagala kwe kulaba nti bye mufuna byeyongera obungi. Naye kaakano mmaze okufuna ebisinga ku ebyo bye neetaaga. Nzijudde olw'okufuna bye mwampeereza, Epafuradito bye yandeetera. Ebirabo bino biri ng'akawoowo akalungi ennyo ak'ekitambiro ekisanyusa, era ekisiimibwa Katonda. Kale Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga, ng'aggya ku bugagga bwe obungi, obuli mu Kristo Yesu. Katonda waffe, era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe gyonna. Amiina. Mulamuse abantu ba Katonda bonna abakkiriza Kristo Yesu. Baganda baffe abali nange babalamusizza. Era abantu ba Katonda bonna, na ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaari babalamusizza. Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa. Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, era n'owooluganda Timoteewo, tuwandiikira mmwe abantu ba Katonda, era abooluganda abeesigwa mu Kristo, abali mu Kolosaayi. Katonda Kitaffe abakwatirwe mmwe ekisa era abawe emirembe. Bulijjo twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira mmwe, okuva lwe twawulira nga bwe mukkiriza Kristo Yesu, era nga bwe mwagala abantu ba Katonda bonna. Ebyo byombi mubikola kubanga mulina essuubi ery'okufuna ebirungi ebibaterekeddwa mu ggulu. Essuubi eryo mwalifuna bwe mwategeezebwa ekigambo eky'amazima, ge Mawulire Amalungi agagenda gabuna mu nsi yonna, era nga gakola ekyo kye gakoze mu mmwe, okuviira ddala ku lunaku lwe mwasooka okuwulira ku kisa kya Katonda, ne mukitegeerera ddala mu mazima, nga bwe kyabayigirizibwa Epafura mukozi munnaffe omwagalwa, omuweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe. Era ye yatutegeeza okwagala kwammwe, Mwoyo Mutuukirivu kw'abawadde. Kale naffe okuva lwe twawulira ekyo, tetulekangayo kubasabira na kwegayirira Katonda, abajjuze okumanya by'ayagala, nga mubimanya mu magezi gonna, n'okutegeera okw'omwoyo. Olwo mulisobola okuba nga Mukama bw'ayagala, nga mumusanyusa mu byonna. Muliba ba mugaso mu buli kirungi kye mukola, era mulyeyongera okumanya Katonda. Obuyinza bwe obwekitiibwa bulibawa amaanyi gonna, musobole okugumira byonna n'obugumiikiriza, nga muli basanyufu, nga bwe mwebaza Kitaffe eyabasaanyiza okuba awamu n'abantu be mu kitangaala. Yatuwonya obuyinza bw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka bw'Omwana we omwagalwa, eyatununula n'atusonyiwa ebibi byaffe. Kristo yennyini gwe tulabiramu Katonda atalabika, era ye mwana omubereberye, akulira ebitonde byonna. Ebintu byonna ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, newaakubadde entebe ez'obwakabaka, n'obufuzi bw'amatwale, wadde abakungu n'ab'obuyinza, byonna byatonderwa mu ye era ku lulwe. Ye yaliwo ng'ebintu byonna tebinnatondebwa; era byonna bibeerawo mu ye. Ekibiina ky'abamukkiriza gwe mubiri gwe, era ye gwe mutwe gwakyo. Ye y'entandikwa, ye mubereberye mu kuzuukira, kyava aba omubereberye mu byonna. Katonda yasiima okutuukirira kwonna kubeerenga mu Kristo. Era yasiima ayite mu ye okutabagana n'ebintu byonna, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, ng'aleetawo emirembe olw'okufa kwa Kristo oyo, eyafiira ku musaalaba. Nammwe edda mwali mweyawudde ku Katonda, era nga muli balabe be olw'ebirowoozo byammwe n'ebikolwa byammwe ebibi. Naye kaakano Katonda yatabagana nammwe, mu mubiri gwa Kristo eyafa, alyoke abanjule nga muli batukuvu, abataliiko kamogo wadde omusango mu maaso ga Katonda. Kyokka muteekwa okuba mu kukkiriza, nga muli banywevu, nga temusagaasagana, era nga temuvudde mu kusuubira kwe mwafuna mu Mawulire Amalungi ge mwawulira. Amawulire Amalungi ago, gatuusiddwa ku bantu bonna abali ku nsi, era nze Pawulo, nafuulibwa omuweereza waago. Kaakano nsanyuka olw'okubonaabona kwe mbonaabonamu ku lwammwe. Era okubonaabona kwange mu mubiri, kutuukiriza ebyo ebyasigalira ku kubonaabona kwa Kristo olw'omubiri gwe, kye kibiina ky'abamukkiriza. Katonda yanfuula omuweereza w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, n'ampa omulimu ogw'okumanyisiza ddala ekigambo kye ku lwammwe. Ekigambo kye ekyo, kye kyama ekyali kikisiddwa eri abantu ab'emirembe egy'edda. Naye kaakano akimanyisizza abantu be. Katonda yayagala okukimanyisa nga bwe kiri eky'omuwendo, era ekyekitiibwa ennyo mu mawanga. Ekyama ekyo ye Kristo ali mu mmwe, era n'ekitiibwa kye musuubira okufuna. Kristo oyo gwe tumanyisa mu bantu. Tulabula, era tuyigiriza buli omu, nga tukozesa amagezi gonna, tulyoke tuleete buli muntu eri Katonda, ng'atuukiridde mu Kristo. Ekyo kye nteganira, ne nfuba nga neesiga amaanyi ga Katonda ag'obuyinza, agakolera mu nze. Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo ku lwammwe, ne ku lw'abo ab'omu Lawodiikiya, era ne ku lw'abo bonna abatandabangako. Ekyo nkikola, emitima gyabwe giryoke gisanyuke, nga bassa kimu mu kwagalana, bategeerere ddala era bamanyire ddala ekyama kya Katonda. Ekyama ekyo ye Kristo. Mu ye mwe mukwekeddwa amagezi gonna, n'okumanya kwonna. Ekyo nkibategeeza, waleme kubaawo ababuzaabuza, ng'akozesa ebigambo ebisendasenda. Newaakubadde nga siri nammwe mu mubiri, naye ndi wamu nammwe mu mwoyo, era nsanyuka okulaba nti mutebenkedde, nga muli banywevu mu kukkiriza Kristo. Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mwegatte wamu naye mu bulamu bwammwe. Munywerere ddala mu ye, era mukulire mu ye, nga muli banywevu mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, era temukoowanga kwebaza. Mwekuumenga waleme kubaawo ababuzaabuza, n'abafuula abaddu, ng'akozesa ebigambo eby'amagezi ag'abantu obuntu agataliimu nsa, era ag'obulimba, abantu ge bayigiriza, nga bageesigamya ku buyinza bw'emisambwa, sso si ku Kristo. Ddala mu Kristo, obwakatonda bwonna mwe buli. Era ye akulira abafuzi n'ab'obuyinza bonna. Nammwe mu ye mwe mwafunira obulamu obujjuvu, era mwakomolerwa mu ye. Temwakomolebwa bantu, wabula Kristo ye yabakomola, ng'abambulamu embeera yammwe etetabagana na Katonda. Bwe mwabatizibwa mwaziikibwa wamu ne Kristo, era mu kubatizibwa mwazuukira wamu naye olw'okukkiriza obuyinza bwa Katonda eyamuzuukiza. Nammwe abaali bafudde olw'ebibi byammwe n'olw'obutakomolebwa bwammwe mu mubiri, Katonda yabafuula balamu wamu ne Kristo, bwe yatusonyiwa ebibi byaffe byonna. Yasazaamu era n'aggyawo endagaano eyatuwalirizanga okutuukiriza ebyo amateeka g'Ekiyudaaya bye galagira, n'agikomerera ku musaalaba. Ku musaalaba ogwo kwe yawangulira abafuzi n'ab'obuyinza, n'abaggyako ebyokulwanyisa, n'abaswaza mu lwatu. Kale tewabangawo abanenya olw'ebyo ebifa ku byokulya ne ku byokunywa, oba olw'ebyo ebikwata ku nnaku enkulu, ne ku kuboneka kw'omwezi, wadde ku nnaku za Sabbaato. Ebyo byonna kifaananyi bifaananyi eky'ebyo ebigenda okujja. Naye ekirimu ensa ye Kristo. Walemenga kubaawo babalimbalimba, nga beesigama ku kwewombeeka okw'obulimba, ne ku kusinza bamalayika, nga beesiga okulabikirwa okutaliimu. Abantu abo beekulumbaliza bwereere olw'ebirowoozo byabwe eby'abantu obuntu, era baba tebakyali ku Kristo omutwe, aliisa omubiri gwonna, n'agatta ennyingo n'ebinywa byagwo, ne gukula nga Katonda bw'ayagala gukule. Mwafiira wamu ne Kristo ne muwona obuyinza bw'emisambwa, obufuga ensi. Kale lwaki ate muyisa ng'abakyafugibwa ensi, ne mukkiriza okuweebwa ebiragiro nga bino: “Tokwatanga ku kino; tokombanga ku ekyo; kiri tokikoonangako”? Ebyo byonna okubikola, tekiriiko kye kigasa. Okwo kuba kugoberera biragiro n'okuyigiriza okw'abantu obuntu. Weewaawo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri y'okusinza Katonda, abantu gye beegunjirawo bokka, ne mu kwewombeeka okw'obulimba, era ne mu kubonereza omubiri. Naye tebiriiko kye bigasa mu kufuga okwegomba kw'omubiri. Mwazuukira wamu ne Kristo. N'olwekyo mulowoozenga ku biri mu ggulu, Kristo gy'atudde ng'aliraanye Katonda, mu kifo ekisinga eby'abalala ekitiibwa. Mulowoozenga ku bya mu ggulu, sso si ku bya ku nsi, kubanga mwafa, era obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda. Kristo, obulamu bwammwe, bw'alirabika, olwo nammwe mulirabikira wamu naye mu kitiibwa. Kale mutte okwegomba okubi okuli mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, obukaba, okwegomba okw'ensonyi, n'omululu, kwe kusinza ebitali Katonda. Katonda asunguwalira abamujeemera ne bakola ebyo. Era nammwe ebyo bye mwakolanga edda mu bulamu bwammwe. Naye kaakano bino byonna mubireke: obusungu, ekiruyi, n'ettima. Okuvvoola era n'emboozi embi biremenga kuva mu kamwa kammwe. Temulimbagananga, kubanga mweyambula obulamu obukadde n'ebikolwa byabwo ebibi, ne mwambala obulamu obuggya, oyo eyabatonda bw'agenda ayongera okuzza obuggya mu kifaananyi kye, mulyoke mumutegeere bulungi. Olwo waba tewakyali kwawulamu Muyonaani na Muyudaaya, mukomole n'atali mukomole, munnaggwanga, atali mugunjufu, muddu oba ow'eddembe, wabula Kristo ye byonna, era ye ali mu byonna. Muli batukuvu, abaagalwa era abalondemu ba Katonda. N'olwekyo mubenga n'omwoyo ogusaasira, mubenga n'ekisa, n'obwetoowaze, n'obuteefu, era n'okugumiikiriza. Mugumiikirizaganenga era musonyiwaganenga buli lwe wabangawo alina kye yeemulugunyiza munne. Muteekwa okusonyiwagana mu ngeri ye emu nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe. Era ku ebyo byonna, mwongereeko okwagalana. Okwo kwe kunyweza ebintu byonna awamu, mu kutabagana okujjuvu. Emirembe gya Kristo gy'agaba, era Katonda gye yabayitira okuba awamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu, giramulenga mu mitima gyammwe; era mwebazenga. Ekigambo kya Kristo, mu bugagga bwakyo bwonna, kibeerenga mu mitima gyammwe. Muyigirizaganenga era mubuuliriraganenga mu magezi gonna. Nga mujjudde okwebaza mu mitima gyammwe, Katonda mumuyimbire zabbuli, n'ennyimba, n'ebiyiiye, Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya. Buli kintu kye mwogera oba kye mukola, mukikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe. Abakazi muwulirenga babbammwe, ng'abakkiriza Mukama waffe bwe basaana okukola. Abasajja mwagalenga bakazi bammwe, era temubakambuwaliranga. Abaana, bazadde bammwe mubawulirenga mu byonna, kubanga ekyo kisanyusa Mukama waffe. Bakitaabwe b'abaana, temukaluubirizanga baana bammwe okutuuka okwenyiwa, sikulwa nga baterebuka. Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubawulirenga mu byonna, si lwa kulabibwa kyokka, ng'abaagala okusiimibwa abantu, naye mubaweerezenga n'omutima ogutaliimu bukuusa, nga mussaamu Mukama waffe ekitiibwa. Buli kye mukola, mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abakolera Mukama waffe, sso si ng'abakolera abantu. Mumanye nti mulifuna empeera, Mukama waffe gye yasuubiza. Kristo ye Mukama wammwe gwe muweereza. Oyo akola ekibi, alibonerezebwa olw'ekibi kye yakola, kubanga tewaliba kusaliriza. Bakama b'abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe, nga muli benkanya, nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu. Munyiikirenga okusinza Katonda, nga temuddirira, era nga mumwebaza. Era naffe mutusabirenga, Katonda atuggulirewo oluggi, tutegeeze abantu ekigambo kye, tubamanyise ekyama kya Kristo. Era ekyo kye kyansibisa mu kkomera. Munsabire nkitegeeze abantu mu ngeri yennyini gye nsaana okukibategeezaamu. Abo abatannafuna kukkiriza, mukolaganenga nabo n'amagezi, nga mukozesa buli mukisa gwe mulina. Bulijjo mwogerenga mu ngeri enyuma era esanyusa, era mumanyenga engeri gye musaana okwanukulamu buli omu. Tukiko owooluganda omwagalwa, omuweereza omwesigwa era mukozi munnaffe mu mulimu gwa Mukama waffe, ajja kubategeeza byonna ebyantuukako. Kyenvudde mmutuma gye muli, mumanye nga bwe tuli, era agumye emitima gyammwe. Era awamu naye, ntumye Onesimo owooluganda era omwagalwa, ow'ewammwe. Bajja kubategeeza byonna ebifa eno. Arisitaruuko musibe munnange, ne Mariko omujjwa wa Barunaba babalamusizza. Mariko oyo, gwe nabagambako. Bw'ajjanga gye muli mumwanirizanga. Ne Yesu, ayitibwa Yusto, abalamusizza. Abo be bokka ab'omu bakomole abakola nange omulimu ogw'Obwakabaka bwa Katonda, era abanzizizzaamu ennyo amaanyi. Epafura ow'ewammwe, omuweereza wa Kristo Yesu, abalamusizza. Era bulijjo abasabira nnyo, mube batuukirivu, abategeeredde ddala Katonda by'ayagala. Nkikakasa nti Epafura, mmwe awamu n'ab'omu Lawodiikiya, era n'ab'omu Yerapoli, abakoleredde nnyo. Lukka omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza. Mulamuse abooluganda ab'omu Lawodiikiya. Era mulamuse Nunfa, n'ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Lawodiikiya. Ebbaluwa eno bw'emala okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n'ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Lawodiikiya. Era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodiikiya. Era mugambe Arikipo nti: “Fuba okutuukiriza omulimu gwa Mukama waffe gwe wakwasibwa.” Nze Pawulo, nze mpandiise n'omukono gwange okulamusa kuno. Munzijukire mu busibe bwange. Katonda abakwatirwenga mmwe ekisa. Nze Pawulo ne Siluvaano ne Timoteewo, tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo abali mu Tessalonika, aba Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo. Katonda abakwatirwe ekisa mmwe era abawe emirembe. Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna, era tetwosa kubasabira eri Katonda. Bulijjo nga tuli mu maaso ga Katonda era Kitaffe, tujjukira nga bwe mulaga okukkiriza kwammwe n'okwagala kwammwe, mu ebyo bye mukola. Era tujjukira nga bwe mulaga essuubi lyammwe mu Mukama waffe Yesu Kristo. Abooluganda, tumanyi nga Katonda abaagala, era yabalondamu mube ababe, kubanga bwe twabategeeza Amawulire Amalungi, tegaali bigambo bugambo, wabula gaalimu amaanyi ne Mwoyo Mutuukirivu, era nga tukakasiza ddala nti bye tugamba bya mazima. Mumanyi bulungi nga bwe twayisanga nga tuli mu mmwe. Ekyo kyali bwe kityo, lwa kwagala kugasa bwammwe. Nammwe mwagoberera empisa zaffe n'eza Mukama waffe, kubanga newaakubadde mwabonaabona olw'ekigambo kya Katonda, naye mwakikkiriza n'essanyu eriva mu Mwoyo Mutuukirivu. Bwe mutyo ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab'omu Makedooniya n'ab'omu Akaya, kubanga mwabunya ekigambo kya Katonda, si mu Akaya mwokka, naye wonna wonna baamanya bwe mukkiriza Katonda. Kyetuva tuteetaaga kubaako kye twogera, kubanga abantu bennyini banyumya nga bwe twajja ewammwe, era nga bwe mwava ku bitali Katonda, ne mudda eri Katonda Nnannyinibulamu era ow'amazima, mumuweereze, era mulindirire Omwana we okujja ng'ava mu ggulu, gwe yazuukiza, ye Yesu atuwonya obusungu bwa Katonda obugenda okujja. Abooluganda, mmwe mwennyini mumanyi nti okujja kwaffe gye muli, tekwafa bwereere. Mumanyi nga bwe twabonaabona, era nga bwe twavumirwa e Filippi, nga tetunnajja gye muli e Tessalonika. Naye Katonda waffe yatugumya, ne tubategeeza mmwe Amawulire Amalungi agava gy'ali, newaakubadde bangi baatuziyizanga. Bye tubakubiriza si bya bulimba oba eby'obugwagwa, wadde eby'obukuusa. Naye nga Katonda bwe yatwesiga n'atukwasa Amawulire Amalungi, naffe bwe tutyo bwe tugabategeeza, nga tetugenderera kusanyusa bantu, wabula okusanyusa Katonda akebera emitima gyaffe. Mumanyi bulungi nti tetukozesanga bigambo bya kubawaanawaana, wadde eby'okukweka omululu gwaffe. Katonda ye mujulirwa waffe. Tetwegombanga kitiibwa, okukiweebwa mmwe oba abalala, newaakubadde nga twandisobodde okukibasaba mmwe, nga bwe tuli abatume ba Kristo. Naye twegendereza mu mmwe, ng'omuzadde alabirira abaana be. Twabalumirwa nnyo omwoyo, kyetwava twegomba okubatuusaako Amawulire Amalungi agava eri Katonda. Si ekyo kyokka, naye twegomba n'okuwaayo obulamu bwaffe bwennyini, kubanga twabaagala nnyo. Abooluganda mujjukire nga bwe twabategeezanga Amawulire Amalungi agava eri Katonda, era nga bwe twafuba ne tutegana, nga tukola emisana n'ekiro, tuleme okuzitoowerera wadde omu ku mmwe. Mmwe abakkiriza muyinza okutujulira, era ne Katonda atujulira nti empisa zaffe nga tuli mu mmwe zaali ntukuvu, ezituukiridde, era ezitaliiko kya kunenyezebwa. Mumanyi nti buli omu ku mmwe twabanga naye nga kitaawe w'abaana bw'aba n'abaana be. Twababuulirira, twabagumya, era twabakubiriza mube mu bulamu obusanyusa Katonda, eyabayita okuba mu Bwakabaka bwe ne mu kitiibwa kye. Era kyetuva twebaza Katonda bulijjo, kubanga bwe mwawulira ekigambo kye, kye twabategeeza, mwakikkiriza, si nga eky'abantu, wabula mwakkiriza nti ddala kya Katonda. Era ekigambo kye, kye kikolera mu mmwe abakkiriza. Abooluganda, mufaanana n'ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo Yesu ab'omu Buyudaaya, kubanga mwabonyaabonyezebwa bannansi bannammwe, nga bali bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya, abatta Mukama waffe Yesu era n'abalanzi, ate naffe ne batuyigganya. Tebasanyusa Katonda, era balabe b'abantu bonna. Baagezaako n'okutuziyiza okutegeeza ab'amawanga amalala eby'okubalokola, ekyo ne kyongera ku bibi byabwe bye bazze bakola okuva edda. Ku nkomerero Katonda n'abasunguwalira nnyo. Abooluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono (ku maaso, sso si ku mutima), tweyongera nnyo okwegomba okubalabako, ne twagala okujja gye muli. Nze Pawulo, nagezaako omulundi ogusooka n'ogwokubiri, kyokka Sitaani n'atuziyiza. Kale Mukama waffe bw'alijja, si mmwe mulibeera essuubi lyaffe n'essanyu lyaffe mu maaso ge? Si mmwe tulisinziirako okwenyumiriza olw'obuwanguzi? Mmwe kitiibwa kyaffe, era mmwe ssanyu lyaffe. Kale bwe twalemwa okwongera okugumiikiriza, kyetwava tusalawo okusigala ffekka mu Ateene, ne tutuma muganda waffe Timoteewo, gwe tukola naye omulimu gwa Katonda nga tutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo. Twamutuma abagumye, era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, waleme kubaawo n'omu aterebuka olw'okuyigganyizibwa. Bwe twali tukyali nammwe twabategeerezaawo nti tuli ba kubonyaabonyezebwa, era mumanyi nti ekyo kituukiridde. Nange bwe nalaba nga sikyayinza kugumiikiriza, kwe kubatumira Timoteewo. Namutuma, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe bwe kuli nga ntya nti sikulwa ng'omukemi abakema, okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere. Kaakano Timoteewo ky'ajje akomewo gye tuli ng'ava ewammwe. Atuleetedde amawulire amalungi, agafa ku kukkiriza kwammwe n'okwagala kwammwe. Era atutegeezezza nti bulijjo mutulowoozaako nnyo, era nti mwegomba okutulabako nga naffe bwe twegomba okubalabako. Kale baganda baffe, newaakubadde nga tuli mu buzibu bungi, ne mu kubonaabona, naye okukkiriza kwammwe kutuzzizzaamu amaanyi, kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, tuba balamu ddala. Kale Katonda tunaamuwa ki okumwebaza olw'essanyu lye tulina mu maaso ge ku lwammwe? Emisana n'ekiro twegayirira nnyo Katonda, tusobole okulabaganako nammwe amaaso n'amaaso, era tulyoke tutuukirize ebikyabula ku kukkiriza kwammwe. Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu, batusobozese okujja gye muli. Mukama abongeremu okwagalananga n'okwagalanga abantu bonna, nga ffe bwe tubaagala mmwe. Anyweze emitima gyammwe, Mukama waffe Yesu bw'alijja awamu n'abatukuvu be, mulyoke musangibwe nga temuliiko kya kunenyezebwa, nga muli batukuvu mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe. Abooluganda, mwatuyigirako nga bwe musaana okubeera, mulyoke musanyuse Katonda, era bwe mutyo bwe mubadde mukola. Kale kaakano eky'enkomerero, tubeegayirira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukole bwe mutyo n'okusingawo, kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa ku bwa Mukama waffe Yesu nga bwe biri. Katonda ky'abaagaza, kwe kuba abatukuvu, mwewale obwenzi. Buli omu mu mmwe ateekwa okumanya okufuganga omubiri gwe mu butukuvu, n'okugussangamu ekitiibwa. Temufugibwanga kwegomba kwa mubiri, ng'abantu ab'ensi abatamanyi Katonda bwe bakola. Mu nsonga eno waleme kubaawo akola ebirumya munne, wadde okumutwalako ekikye, kubanga Mukama awoolera eggwanga oly'ebyo byonna. Ebyo byonna twabibalabulamu era twabibategeeza dda. Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula yatuyitira butukuvu. N'olwekyo buli anyooma ekyo, aba tanyoomye muntu, wabula aba anyoomye Katonda, abawa mmwe Mwoyo Mutuukirivu we. Naye ebikwata ku kwagalana, abooluganda, seetaaga kubibawandiikira, kubanga mmwe mwennyini Katonda yabayigiriza okwagalana. Era bwe mutyo bwe mukola mu booluganda bonna abali mu Makedooniya yonna. Kale baganda baffe, tubeegayirira mukolenga bwe mutyo n'okusingawo. Munyiikirirenga okuba mu ddembe, mukolenga emirimu gyammwe, nga mukola n'emikono gyammwe nga bwe twabagamba. Olwo abatakkiriza banaabassangamu ekitiibwa, era muneemaliriranga mu bye mwetaaga. Abooluganda, twagala mumanye ebikwata ku abo abaafa, muleme kunakuwala ng'abantu abalala abatalina ssuubi. Tukkiriza nti Yesu yafa n'azuukira, era bwe kiriba ne ku abo abaafa nga bakkiriza Yesu: Katonda alibakomyawo wamu ne Yesu. Tubategeeza ekyo Mukama waffe kye yagamba nti Ye Mukama waffe bw'alijja, ffe abalamu tetulisooka abo abaafa. Mukama waffe yennyini alikka ng'ava mu ggulu, ekirangiriro nga kirangirirwa, eddoboozi lya Ssaabamalayika nga liwulirwa, era n'ekkondeere lya Katonda nga livuga. Abo abaafa nga bakkiriza Kristo, be balisooka okuzuukira. Awo naffe abaliba bakyali abalamu, ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire, okusisinkana Mukama waffe mu bbanga. Olwo ne tubeeranga ne Mukama waffe bulijjo. Kale buli omu agumyenga munne n'ebigambo ebyo. Baganda bange, tetwetaaga kubawandiikira bifa ku budde n'ebiseera, ebyo we biribeererawo. Nammwe mwennyini mumanyidde ddala nti olunaku lwa Mukama lujja ng'omubbi bw'ajja ekiro. Abantu bwe baliba nga bagamba nti: “Mirembe, tewali kabi”, olwo okuzikirizibwa ne kulyoka kubatuukako, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi alumwa okuzaala. Tebaliwona n'akatono. Naye mmwe, baganda bange, temuli mu kizikiza nti olunaku olwo lulibagwikiriza ng'omubbi, kubanga mwenna muli bantu ba kitangaala, era muli ba misana. Tetuli ba kiro, wadde ab'ekizikiza. Kale tuleme kwebaka ng'abalala, naye tutunule, tuleme kuba batamiivu. Abeebaka, beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro. Kale nga bwe tuli ab'emisana, tuleme kuba batamiivu. Okukkiriza n'okwagalana bitubeerere engabo, n'okusuubira obulokozi kutubeerere enkuufiira, kubanga Katonda teyatuteekerateekera kubonerezebwa busungu bwe, wabula yatuteekerateekera kulokolebwa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatufiirira, tulyoke tube balamu wamu naye, si nsonga oba tufudde oba tuli balamu. Kale buli omu agumyenga munne, era amuyambenga, nga bwe mukola kati. Abooluganda, tubeegayirira mumanye abo abakola omulimu mu mmwe, era Katonda b'alonze okubakulembera n'okubayigiriza. Mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubaagalenga olw'omulimu gwabwe. Mubenga n'emirembe mu mmwe. Abooluganda, tubeegayiridde mulabulenga abagayaavu, mugumyenga abatali banywevu, muyambenga abanafu, mugumiikirizenga bonna. Mulabe nti mu mmwe tewaba awoolera ggwanga, wabula bulijjo munyiikirirenga okukola ebirungi mu mmwe, ne mu bantu bonna. Musanyukenga bulijjo. Musinzenga Katonda buli kiseera. Mu byonna mwebazenga, kubanga ekyo mmwe ng'abantu ba Kristo, Katonda ky'ayagala mukole. Temuziyizanga Mwoyo Mutuukirivu. Temugayanga bya balanzi. Mwekenneenyenga byonna, mugumirenga ku kirungi, mwewalenga buli kibi. Katonda yennyini atuwa emirembe, abatukuze. Era emyoyo gyammwe n'obulamu bwammwe n'emibiri gyammwe, bikuumibwe nga biri bulungi, Mukama waffe Yesu bw'alijja, mube nga temuliiko kye munenyezebwa. Eyabayita mwesigwa, era ekyo alikituukiriza. Baganda bange, mutusabire. Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okw'abantu ba Katonda. Mbalagira, mu linnya lya Mukama waffe, ebbaluwa eno esomerwe abooluganda bonna. Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa. Nze Pawulo, ne Siluvaano ne Timoteewo, tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ab'omu Tessalonika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo. Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa era babawe emirembe. Abooluganda, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe. Ekyo tusaanye okukikola kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, era n'okwagala buli omu mu mmwe kw'ayagalamu banne kweyongera. Naffe ffennyini kyetuva twenyumiriza ku lwammwe mu bibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo. Twenyumiriza olw'okugumiikiriza n'olw'okukkiriza kwammwe mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna, ne mu kubonaabona bye mugumira. Ekyo kiraga nti Katonda mwenkanya mu kulamula kwe, kubanga ku nkomerero mulisaanira Obwakabaka bwa Katonda bwe mubonaabonera. Katonda mwenkanya, alibonereza abo abababonyaabonya, ate mmwe ababonyaabonyezebwa n'abawa ekiwummulo awamu naffe. Ebyo biribaawo Mukama waffe Yesu bw'alirabika ng'ava mu ggulu, ng'ali ne bamalayika be ab'amaanyi. Walibaawo n'omuliro ogwaka, abonereze abo abatamanyi Katonda, n'abo abagaana okukkiriza Amawulire Amalungi aga Mukama waffe Yesu. Baliweebwa ekibonerezo eky'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, ne bagobebwa mu maaso ga Mukama oweekitiibwa ennyo. Ebyo biribaawo ku lunaku lw'alijjirako okugulumizibwa mu batukuvu be, bonna abakkiriza ne bamulaba mu kitiibwa kye. Nammwe muliba wamu nabo, kubanga mwakkiriza ebyo bye twabategeeza. Bulijjo kyetuva tubasabira eri Katonda waffe, abasaanyize ekyo kye yabayitira, era mu buyinza bwe, atuukirize ebirungi byonna bye mumaliridde okukola, ne bye mukola olw'okukkiriza. Olwo Mukama waffe Yesu alyoke aweebwe ekitiibwa mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye. Ekyo kituukirizibwe olw'ekisa kya Katonda waffe, ne Mukama Yesu Kristo. Kaakano abooluganda, twagala okubategeeza ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nga bwe tulikuŋŋaanira w'ali. Tubeegayirira muleme kusagaasagana mangu mu birowoozo byammwe, wadde okweraliikirira, nga mutegeezebwa nti olunaku lwa Mukama lutuuse, ekyo ne bwe kibategeezebwa omulanzi oba mu lugambo, wadde mu bbaluwa egambibwa nti ffe twagiwandiika. Temukkirizanga muntu n'omu kubabuzaabuza, kubanga olunaku olwo terulituuka ng'okujeemera Katonda tekunnabaawo, era omuntu omwonoonyi, ow'okuzikirira alimala kulabika. Aliwakanya era alyegulumiza ku buli kintu ekiyitibwa Katonda, oba ekisinzibwa. Era alituukira ddala ne ku kutuula mu ssinzizo lya Katonda, nga ye yennyini yeeyita Katonda. Temujjukira nti ebyo nabibategeeza bwe nali nkyali nammwe? Era mumanyi ekimuziyiza okulabika okutuusa ekiseera kye lwe kirituuka alyoke alabike. Obujeemu weebuli, bukolera mu kyama. Kyokka oyo abuziyiza ajja kubuziyiza okutuusa lw'aliggyibwawo. Olwo omujeemu oyo alirabika, Mukama Yesu waffe n'alyoka amutta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era n'amuzikiriza n'ekitiibwa kye ky'alijjiramu. Omubi oyo aleetebwa Sitaani, alijja n'akola n'amaanyi mangi ebyamagero ebya buli ngeri, n'ebyewuunyo eby'obulimba. Era alikozesa buli kibi ekiyinza okukyamya abo ab'okuzikirira, kubanga baagaana amazima agandibalokodde. Katonda kyava abaleka okubuzibwabuzibwa, bakkirize eby'obulimba, abo bonna abatakkiriza mazima, balyoke basingibwe omusango, kubanga baasanyukira ekibi. Abooluganda, abaagalwa ba Mukama waffe, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe, kubanga Katonda yabalonda, mube ababereberye mu kulokolebwa olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, abafuula abantu ba Katonda abatukuvu olw'okukkiriza amazima. Yabayitira mu Mawulire Amalungi, ge twabategeeza, mulyoke mugabane ku kitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. N'olwekyo, abooluganda, mube banywevu, munywerere ku ebyo eby'amazima bye twabayigiriza mu bigambo oba mu bbaluwa yaffe. Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala era olw'ekisa kye, n'atuwa essanyu eritaggwaawo n'essuubi eddungi, abagumye emitima, era abawe amaanyi, mu birungi byonna bye mukola ne bye mwogera. Eky'enkomerero, abooluganda, mutusabire, ekigambo kya Mukama kiryoke kyeyongere okubuna amangu, era kiweebwe ekitiibwa, nga bwe kyali mu mmwe. Era mutusabire, tuwone abantu aboonoonyi era ababi, kubanga okukkiriza si kwa bonna. Kyokka Mukama waffe mwesigwa. Alibawa amaanyi mmwe, era alibawonya Omubi. Tubeesiga, kubanga muli ba Mukama, ne tukakasa nti mukola era munaakolanga ebyo bye twabalagira. Mukama aluŋŋamye emitima gyammwe mu kwagala kwa Katonda n'okugumiikiriza kwa Kristo. Kale baganda bange, tubalagira mu linnya lya Mukama Yesu Kristo: mwewale abooluganda abagayaavu, era abatagoberera ebyo bye twabayigiriza mmwe. Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti musaanidde okukola nga ffe bwe twakolanga. Bwe twali nammwe, tetwali bagayaavu. Tetwalyanga mmere ya bwereere, wabula twakolanga nnyo, nga tufuba emisana n'ekiro, tuleme okukaluubirira wadde omu ku mmwe. Tetugamba nti tekyanditugwanidde, wabula twayagala kubawa kyakulabirako, namwe mukolenga nga ffe. Ne bwe twali nga tukyali wamu nammwe, twabalagira nti: “Agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.” Twawulira nti abamu mu mmwe bagayaavu, tebakola mirimu, wabula okweyingiza mu bya bannaabwe. Ab'engeri eyo tubalagira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, bakolenga emirimu nga bakkakkamu, bafune kye balya. Abooluganda, temukoowanga kukola bulungi. Bwe wabangawo agaana okugoberera kye tugamba mu bbaluwa eno, mumugenderere, era muleme kukolagana naye, alyoke akwatibwe ensonyi. Kyokka temumuyisa ng'omulabe, wabula mumulabule nga muganda wammwe. Kale Mukama waffe yennyini, nnannyini mirembe, abawenga emirembe bulijjo, buli we mubeera. Mukama abeerenga namwe mmwenna. Nze Pawulo, okulamusa kuno nze nkuwandiise ne nteekako omukono. Ako ke kabonero akalaga buli bbaluwa gye mba mpandiise. Bwe ntyo bwe mpandiika. Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna. Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu okusinziira ku kiragiro kya Katonda Omulokozi waffe, ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, nkuwandiikira ggwe Timoteewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe. Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakusaba nga ŋŋenda e Makedooniya, oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. Bagambe balekere awo okwemaliranga ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez'amannya g'abajjajjaabwe. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky'okuyigiriza abantu ebya Katonda, ebiri mu kukkiriza. Ekigendererwa mu kiragiro kino kwe kwagala, okusibuka mu mutima omulongoofu, n'omwoyo omulungi, n'okukkiriza okutaliimu bukuusa. Ebyo abantu abamu babivaako, ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. Beefuula abayigiriza b'amateeka ga Katonda, sso nga tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa. Tumanyi ng'Amateeka malungi, omuntu bw'agakozesa mu ngeri entuufu. Tusaanye tutegeere nti amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo abo abagamenya n'abajeemu, aboonoonyi n'abatatya Katonda, abatali batuukirivu, n'abavvoola ebya Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n'abatta abantu abalala. Gaateekerwawo abenzi n'abalya ebisiyaga, ababuzaawo abantu, abalimba, n'abalayirira obwereere, n'abo bonna abakola ebitakkiriziganya na njigiriza ntuufu. Enjigiriza eyo entuufu ye yiiyo ekkiriziganya n'Amawulire Amalungi, era ageekitiibwa, aga Katonda atenderezebwa, agankwasibwa. Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe, eyampa amaanyi ag'okumuweereza, era eyalaba nga nsaanira, n'ankwasa omulimu gwe. Newaakubadde ng'edda namwogerako bubi, ne mmuyigganya, era ne mmuvoola, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya, nga sinnaba kumukkiriza. Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi nnyo, n'ampa okukkiriza, era n'okwagala, bye tufunira mu Kristo Yesu. Ekigambo kino kituufu ddala, kisaanye okukkiriza ekigamba nti: “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.” Mu bo nze nsingira ddala okuba omwonoonyi. Kyokka Katonda yankwatirwa ekisa: mu nze asingira ddala okuba omwonoonyi, Kristo Yesu mw'aba alagira okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbe ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza, ne bafuna obulamu obutaggwaawo. Kabaka ow'olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga era aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Mwana wange Timoteewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo by'abalanzi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n'obuzira, ng'okukkiriza era n'omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo, kubanga abalala abagaana okuba n'omwoyo ogwo omulungi, bafiirwa okukkiriza kwabwe. Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Alekizanda be nawaayo eri Sitaani balekere awo okuvumanga Katonda. Okusookera ddala, mbasaba muwanjagenga, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw'abantu bonna. Era musabirenga bakabaka, n'abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi, nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. Ekyo kye kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, ayagala abantu bonna balokolebwe, era bamanye amazima. Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w'abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. Era nze kye nateekerwawo mbe omutume era omuyigiriza w'ab'amawanga amalala, mbategeeze eby'okukkiriza n'eby'amazima. Njogera mazima, sirimba. N'olwekyo njagala abasajja, buli wantu beegayirirenga Katonda, nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka. Era njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, na mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, wadde okwambala engoye ez'omuwendo ennyo, wabula bakole ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa. Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga, nga yeewombeese. Sikkiriza mukazi kuyigiriza, wadde okuba n'obuyinza ku musajja, wabula asaana asirike, kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Haawa. Era Adamu si ye yalimbibwalimbibwa, wabula omukazi ye yalimbibwalimbibwa, n'agwa mu kibi. Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala, kasita anaanywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala, ne mu butuukirivu, ne mu kwegendereza. Kituufu nti: “Buli muntu ayagala okuba omulabirizi, aba yeegombye omulimu mulungi.” Omulabirizi ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu. Ateekwa okuba n'omukazi omu yekka. Ateekwa okuba nga yeefuga, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng'amanyi okuyigiriza. Ateekwa okuba nga si mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula abe nga muwombeefu, nga si muyombi, era nga talulunkanira byakufuna. Ateekwa okuba ng'afuga bulungi amaka ge, n'abaana be nga bawulize, era nga ba mpisa. Kale omuntu atasobola kufuga maka ge, asobola atya okulabirira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo? Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, sikulwa nga yeekulumbaza, n'asalirwa omusango, nga Sitaani bwe yagusalirwa. Ateekwa okuba ng'assibwamu ekitiibwa abo abatali ba mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, aleme kubaako ky'anenyezebwamu, era aleme kugwa mu mutego gwa Sitaani. Abadyakoni nabo basaana okuba abantu abassibwamu ekitiibwa, aboogera amazima, abatanywa mwenge mungi, era abatalulunkanira bya kufuna. Basaana okukuuma ekyama ky'okukkiriza mu mwoyo omulungi. Era basookenga kugezebwa, balyoke baweereze nga tebalina kye banenyezebwamu. N'abakazi bwe batyo, nabo basaana okuba abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kimu. Omudyakoni ateekwa okuba n'omukazi omu yekka, era ng'asobola okufuga obulungi abaana be, n'amaka ge, kubanga ababa bakoze obulungi mu budyakoni, bafuna ekifo ekya waggulu, era baba n'obuvumu bungi mu kukkiriza kwabwe mu Kristo Yesu. Nsuubira okujja amangu gy'oli. Kyokka bino mbikuwandiikira, ne bwe ndirwa, omanye bw'osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, kye kibiina ky'abakkiriza Katonda Nnannyinibulamu, empagi era omusingi gw'amazima. Tewali kubuusabuusa, ekyama ky'eddiini yaffe kikulu ddala, ekigamba nti: “Yalabika nga muntu ddala, n'akakasibwa Mwoyo Mutuukirivu. Yalabibwa bamalayika, n'amanyisibwa mu mawanga. Yakkirizibwa ab'omu nsi, n'atwalibwa waggulu mu kitiibwa.” Mwoyo Mutuukirivu ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abasuula okukkiriza, ne bagoberera emyoyo egiwubisa, era ne bagoberera enjigiriza za Sitaani, nga bawubisibwa obukuusa bw'abantu abalimba, ab'emitima egiri ng'egyasiriizibwa ekyuma ekyengereredde. Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era ababagaana okulya ebyokulya ebimu, Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza. Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, era tewali kizira, kasita kiriirwa mu kumwebaza, kubanga kitukuzibwa n'ekigambo kya Katonda era n'okumusinza. Bw'onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'oliisibwa n'ebigambo eby'amazima eby'okukkiriza, n'enjigiriza ennungi gye wagoberera. Naye enfumo ezitaliimu ddiini, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiize okussangamu Katonda ekitiibwa, kubanga okwemanyiiza mu by'omubiri kugasa katono, naye okussaamu Katonda ekitiibwa kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery'omu bulamu buno, era n'ery'obwo obugenda okujja. Ekigambo ekyo kituufu era kisaana okukkiririza ddala. Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda Nnannyinibulamu Omulokozi w'abantu bonna, na ddala ow'abo abakkiriza. Abantu balagirenga ebyo, era obibayigirizenga. Waleme kubaawo akunyooma olw'obuvubuka bwo, wabula mu kwogera ne mu mpisa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu butukuvu, beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. Nyiikiriranga okusoma ebyawandiikibwa, n'okubuulirira abantu ebya Katonda, n'okubayigiriza okutuusa lwe ndijja. Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe kye waweebwa, abantu abakulu bwe baakussaako emikono gyabwe, ng'abalanzi bwe baayogera. Ebyo birowoozenga era obissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. Ebyo binywerereko, nga weekuuma mu mpisa zo, ne mu by'oyigiriza, kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola ggwe wennyini, era n'abo abakuwulira. Toboggoleranga musajja mukadde, wabula mubuulirirenga nga kitaawo. Abavubuka babuulirirenga nga baganda bo, abakazi abakadde babuulirirenga nga bazadde bo, n'abakazi abato babuulirirenga nga bannyoko, ng'omutima gwo mutukuvu ddala. Bannamwandu, abayisa nga bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. Nnamwandu bw'abanga n'abaana oba abazzukulu, basookenga okuyiga okutuukirizanga ebyo bye bateekwa okukolera ab'omu maka g'ewaabwe, bwe batyo babeeko kye basasula bakadde baabwe, kubanga ekyo kisanyusa Katonda. Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, aba yeetadde mu mikono gya Katonda, era anyiikira okwegayirira n'okusaba Katonda emisana n'ekiro. Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba afudde, newaakubadde ng'akyali mulamu. Ebyo bibalagire, baleme kubaako kye banenyezebwamu. Kyokka oyo atafa ku babe, naddala ab'omu nnyumba ye, aba yeegaanye okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza. Nnamwandu atannaweza myaka nkaaga, tomuwandiikanga mu bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu. Nnamwandu oyo ateekwa okuba nga yakolanga ebikolwa ebirungi: ng'okukuza obulungi abaana be, nga yayanirizanga abagenyi, nga yanaazanga ebigere by'abantu ba Katonda, nga yayambanga abali mu buzibu, era nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri. Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga kubawandiika mu lubu lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa. Bwe batyo ne bessaako omusango olw'obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. N'ekirala, bayiga okwonoona ebiseera byabwe nga batambula okubuna amayumba. Si bagayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe, ne boogera n'ebitasaanira kwogera. Kyenva njagala bannamwandu abakyali abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako bubi, kubanga bannamwandu abamu bakyamye, ne bagoberera Sitaani. Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab'olulyo lwe, ye aba abalabiriranga, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kireme kuzitoowererwa, kiryoke kisobole okulabiriranga bannamwandu abataliiko abayamba. Abakulembeze b'abakkiriza, abafuga obulungi, basaanira empeera nnene, naddala abo abafaabiina mu kutegeeza n'okuyigiriza abantu ekigambo kya Katonda, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ente ng'ewuula eŋŋaano, togisibangako mumwa.” Era nti: “Omukozi asaanira empeera ye.” Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze, okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. Kyokka abo aboonoona, banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu ne bamalayika abatukuvu, okugobereranga ebyo bulijjo, nga teweekubiira, wadde okusaliriza. Toyanguyirizanga kussaako mikono gyo ku muntu n'omu. Teweetabanga mu bibi bya balala. Weekuume obeerenga mulongoofu. Lekera awo okunywanga amazzi gokka, naye nywangako ne ku twenge tw'emizabbibu olw'olubuto lwo, n'olw'okulwalalwala kwo. Ebibi by'abantu abamu birabika mu lwatu, nga tebannasalirwa musango, kyokka eby'abalala birabika luvannyuma. N'ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo, birabika mu lwatu. Ne bwe biba nga tebirabise mu lwatu, tebirirema kulabika. Abo bonna abali mu kikoligo ky'obuddu, basaana okussaamu ennyo bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda era n'okukkiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa. Abaddu abo abalina bakama baabwe abakkiriza, tebabanyoomanga olw'okuba baganda baabwe. Wabula beeyongere bweyongezi okubaweereza obulungi, kubanga abo abagasibwa olw'okuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa. Ebyo bibayigirizenga era obibakuutirenga. Buli muntu ayigiriza mu ngeri endala, nga takkiriziganya n'ebigambo ebituufu ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'enjigiriza etabagana n'okussaamu Katonda ekitiibwa, aba ajjudde akazoole k'okubuuzabuuza ku buli kintu n'okuwakana ku buli kigambo, ebivaamu obuggya, okuyomba, okuvuma, okuwaayira, n'okukaayana. Ebyo byonna bikolebwa bantu abaayonooneka amagezi, abatakyalina mazima, abalowooza nti okussaamu Katonda ekitiibwa kuba kwenoonyeza bya bugagga. Weewaawo okussaamu Katonda ekitiibwa kulimu obugagga bungi, singa omuntu amatira mu ebyo by'alina, kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetulina kye tuliggyamu nga tugivaamu. Naye bwe tuba n'emmere n'ebyokwambala, ebyo bitumalenga. Abo abaagala okugaggawala, bagwa mu kukemebwa, ne bakwatibwa okwegomba okungi okw'obusirusiru, era okw'akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira, kubanga okululunkanira ensimbi, ye nsibuko y'ebibi byonna. Olw'okululunkana okwo, abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe. Naye ggwe omuntu wa Katonda, weewalenga ebyo byonna, ogobererenga obutuukirivu, okussaamu Katonda ekitiibwa, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuteefu. Lwana bulungi olutalo olw'okukkiriza, olyoke ofune obulamu obutaggwaawo Katonda bwe yakuyitira, n'oyatulira ddala okukkiriza kwo, mu maaso g'abajulirwa abangi. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda awa byonna obulamu, n'aga Yesu Kristo eyayatulira ddala amazima mu maaso ga Pontiyo Pilaato, okuumenga kye nakulagira, oleme okubaako akamogo, wadde ky'onenyezebwamu, okutuusiza ddala Mukama waffe Yesu Kristo lw'alirabika. Okujja kwe okwo, Katonda atenderezebwa era nnannyini buyinza, kabaka wa bakabaka era mukama w'abakama, alikuleeta mu kiseera kyakwo ekituufu. Ye yekka atafa era abeera mu kitangaala ekitasemberekeka, tewali yali amulabye, era tewali ayinza kumulaba. Ye weekitiibwa era ye w'obuyinza obutaggwaawo. Amiina. Labula abagagga ab'oku nsi kuno, baleme kwegulumiza, wadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna ebitusanyusa. Basaanye okukola obulungi, balyoke babe bagagga mu birungi bye bakola, era babe ba kisa era abagabi. Bwe batyo beeterekere obugagga obulibagasa mu biseera ebirijja, ne bubafunyisa obulamu obwannamaddala. Timoteewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga emboozi ezitassaamu Katonda kitiibwa, n'empaka ez'obusirusiru, abo abeerimba ze bayita ez'amagezi. Abamu abagamba nti bagalina, bakyama ne bava mu kukkiriza. Katonda abakwatirwe mmwe ekisa. Nze Pawulo, Katonda gwe yasiima okuba omutume wa Kristo Yesu, n'okutegeeza abantu ebifa ku bulamu obwatusuubizibwa, bwe tufunira mu Kristo Yesu, mpandiikira ggwe omwana wange omwagalwa Timoteewo. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe. Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi, nga bajjajjange bwe baakola. Bulijjo mmwebaza bwe nkujjukira nga mmwegayirira emisana n'ekiro. Bwe nzijukira amaziga ge wakaaba, neegomba okukulaba, ndyoke njijule essanyu. Nzijukira okukkiriza kwo okw'amazima, era ne jjajjaawo Looyi ne nnyoko Ewuniike kwe baalina, era kaakati nkakasa nti naawe okulina, kyenva nkujjukiza okuseesanga omuliro gw'ekirabo ekiri mu ggwe, Katonda kye yakuwa bwe nakussaako emikono gyange. Mwoyo Katonda gwe yatuwa, tatufuula bati, wabula atujjuza amaanyi, n'okwagala n'okwegenderezanga. N'olwekyo tokwatibwanga nsonyi okwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we; wabula naawe bonaabona olw'Amawulire Amalungi, ng'oyambibwa amaanyi ga Katonda, eyatulokola, n'atuyita tube ababe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku ebyo bye twakola, wabula ng'asinziira ku kuteesa kwe ne ku kisa kye, kye yatukwatirwa ng'ayita mu Yesu Kristo okuva edda n'edda lyonna. Kaakano ekisa ekyo kitegeereddwa mu kulabika kw'Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyaggyawo okufa, n'aleeta obulamu obutaggwaawo, ng'ayita mu Mawulire Amalungi. Katonda yannonda ntegeeze abantu Amawulire Amalungi ng'omutume we era omuyigiriza, era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa, okutuusa ku lunaku luli. Gobereranga ebigambo eby'amazima bye wawulira njogera, era nywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala, bye tulina nga tuli mu Kristo Yesu. Ekirungi eky'omuwendo kye wateresebwa kikuumenga, ng'oyambibwa Mwoyo Mutuukirivu abeera mu ffe. Omanyi nti ab'omu Asiya bonna banjabulira. Mu abo mwe muli Fugelo ne Erumogene. Mukama akwatirwe ekisa ab'omu maka ga Onesiforo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi, era teyakwatibwa nsonyi olw'okubanga ndi musibe. Bwe yatuuka e Rooma, yafuba nnyo okunnoonya, era n'anzuula. Bw'alituuka mu maaso ga Mukama ku lunaku luli, Mukama amukwatirwe ekisa. Era ggwe omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso. Kale mwana wange, nywera ng'oyambibwa amaanyi Kristo Yesu g'atuwa. Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g'abajulirwa abangi, biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala. Naawe bonaabona ng'omuserikale omulungi owa Kristo Yesu. Tewali muserikale ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana egy'abantu abaabulijjo, kubanga ekiba kimuli ku mutima, kwe kusanyusa oyo eyamuwandiika okuba omuserikale. Oyo eyeetaba mu mizannyo gy'empaka, taweebwa ngule ya buwanguzi bw'atagoberera biragiro. Omulimi eyategana asaanira okusooka okufuna ku bibala. Lowooza ku kye ŋŋamba, Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna. Jjukira nti Yesu Kristo, omuzzukulu wa Dawudi yazuukira, ng'Amawulire Amalungi ge ntegeeza abantu bwe gagamba. Olw'Amawulire ago Amalungi kyenva mbonaabona, ne nsibibwa ng'omukozi w'ebibi. Naye ekigambo kya Katonda tekisibiddwa. Kyenva ŋŋumira byonna olw'abalondemu ba Katonda, balyoke bafune okulokolebwa, n'ekitiibwa ekitaggwaawo, ebiri mu Yesu Kristo. Ekigambo kino kya mazima ekigamba nti: “Oba nga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye. Bwe tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Bwe tumwegaana, era naye alitwegaana. Bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa, kubanga tayinza kwewakanya.” Ebyo obijjukizenga abantu bo ng'obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutaliimu mugaso, okwonoona abo abawuliriza. Fubanga okusiimibwa Katonda, ng'oli mukozi akola ebitakuswaza, era yigirizanga bulungi ekigambo eky'amazima. Weewalenga ebigambo ebitassaamu Katonda kitiibwa, era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi kunyooma Katonda. Era ebigambo byabwe birirya nga kookolo. Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Fileeto, abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda. Era waliwo abamu be boonoonedde okukkiriza kwabwe. Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era guliko akabonero, bye bigambo ebigamba nti: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama, ave mu bibi.” Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye mubaamu n'eby'emiti, era n'eby'ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egyekitiibwa, n'ebirala egitali gyakitiibwa. Buli eyeewala ebibi ebyo byonna, ye anaabanga ekintu ekyekitiibwa, ekitukuziddwa, ekisaanira buli mulimu omulungi. N'olwekyo weewalenga okwegomba okubi okw'ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, okukkiriza, okwagalana era n'emirembe, ng'oli wamu n'abo abeegayirira Mukama. Weewalenga empaka ez'obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu nnyombo. Omuweereza wa Mukama tasaana kuyomba, wabula okuba ow'ekisa eri buli muntu, n'okuba omuyigiriza omulungi, agumiikiriza, era ng'aluŋŋamya n'obwetoowaze abo abamuwakanya, osanga Katonda abawa okwenenya, ne bamanya amazima, ne bava mu mutego gwa Sitaani gw'abakwasisizza, abakozese by'ayagala. Kale manya kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiseera eby'akabi, kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ebyokufuna, nga beenyumiriza, nga beepanka, nga bavvoola, era nga tebawulira babazaala. Baliba tebeebaza, nga tebafa ku bya Katonda, nga tebaagalana, era nga tebatabagana; nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi. Baliba nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga kungulu balabika ng'abassaamu eddiini ekitiibwa, sso nga tebakkiriza maanyi gaayo. Abantu abo beewalenga. Mu abo mulimu abasensera mu mayumba, ne bawamba abakazi abasirusiru, abajjudde ebibi, era abatwalibwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, abayiga bulijjo, naye ne batayinziza ddala kutegeera mazima. Bali nga Yene ne Yambure abaawakanya Musa. Ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka amagezi, abatakyalina kukkiriza kutuufu. Naye tebalina gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng'obwa Yane ne Yambure bwe bwamanyibwa. Naye ggwe wagoberera okuyigiriza kwange, n'empisa zange, ne kye nduubirira. Era wagoberera okukkiriza kwange, n'okwagala kwange. Era omanyi nga bwe nagumira okuyigganyizibwa n'okubonyaabonyezebwa, ebyantuukako mu Antiyookiya, mu Yikoniyo ne mu Lisitura. Ddala nayigganyizibwa nnyo! Kyokka Mukama yamponya mu byonna. Era bonna abaagala okuba mu bulamu obussaamu Katonda ekitiibwa nga bali mu Kristo Yesu, ba kuyigganyizibwanga. Naye abantu ababi, n'abalimba balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babuzibwabuzibwa. Naye ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n'obikkiririza ddala, ng'omanyi abaabikuyigiriza. Okuva mu buto bwo, wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza, n'olokolebwa olw'okukkiriza Kristo Yesu. Ebyawandiikibwa byonna Ebitukuvu, Katonda ye yabiruŋŋamya, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya, ne mu kugunjula omuntu akolenga ebituufu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng'atuukiridde, ng'alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira abalamu n'abafu omusango, era nkukuutira olw'okujja kwe, n'olw'Obwakabaka bwe, tegeezanga abantu ekigambo kya Katonda, ng'onyiikira okuyigirizanga mu biseera ebirungi n'ebitali birungi. Nenyanga, kangavvulanga, era buuliriranga abantu, ng'oli mugumiikiriza. Ekiseera kijja, abantu lwe baligaana okuwulira enjigiriza ey'amazima, era olw'okugoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, ababayigiriza ebyo bye baagala. Baligaana okuwuliriza eby'amazima, ne bagoberera enfumo obufumo. Naye ggwe beeranga mwetegefu bulijjo, gumiranga okubonyaabonyezebwa, okolenga omulimu ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, otuukirize omulimu gwe waweebwa. Nze ndi kumpi okutambirwa. Ekiseera kyange eky'okuva ku nsi kituuse. Nnwanye bulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. Kye nsigazza kwe kufuna engule ey'obutuukirivu, Mukama omulamuzi omwenkanya gy'alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n'abo bonna, abeegomba okujja kwe. Fuba okujja amangu gye ndi, kubanga Dema yandekawo ng'ayagala eby'oku nsi kuno, n'agenda e Tessalonika. Kuresike yagenda Galatiya, ne Tito n'agenda e Dalumatiya. Lukka yekka ye ali nange. Ggyayo Mariko omuleete, kubanga annyamba nnyo ku mulimu. Tukiko namutuma mu Efeso. Bw'obanga ojja, ondeeteranga ekkooti yange gye naleka e Turoowa ewa Karipo. Ondeeteranga n'ebitabo, naddala ebyo eby'amaliba. Alekizanda omuweesi w'ebikomo yankola bubi nnyo. Mukama alimusasula olw'ebyo bye yakola. Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe. Mu kuwoza kwange okwasooka, tewali n'omu yannyamba, bonna banjabulira. Nsaba Katonda, ekyo kireme kubavunaanibwa. Naye Mukama yabeera nange, n'ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala ab'amawanga amalala bonna ekigambo kya Katonda, ne bakiwulira, bw'atyo n'anzigya mu kamwa k'empologoma. Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu Bwakabaka bwe obw'omu ggulu. Mukama oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Lamusa Priska ne Akwila, n'ab'omu maka ga Onesiforo. Erasto yasigala mu Korinto, ate Turofimo namuleka mu Mileeto nga mulwadde. Fuba nnyo ojje ng'ekiseera eky'obutiti tekinnatuuka. Ewubulo ne Pudente ne Liino ne Kulawudiyo, awamu n'abooluganda bonna bakulamusizza. Mukama abeere naawe, era akukwatirwe ekisa. Nze Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo. Natumibwa nnyongere mu balondemu ba Katonda okukkiriza, era mbamanyise amazima g'eddiini yaffe, ageesigamye ku kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yatusuubiza okuva edda n'edda lyonna. Ekiseera bwe kyatuuka, obulamu obwo n'abulagira mu bigambo, bye yankwasa mbitegeeze abantu, nga Katonda Omulokozi waffe bwe yalagira. Nkuwandiikira ggwe Tito omwana wange ddala, mu kukkiriza kwaffe ffenna. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, era bakuwe emirembe. Nakuleka mu Kureete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereezebwa, era oteekewo abakulembeze b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, mu buli kibuga, nga bwe nakulagira. Oyo gw'olonda, asaanye okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, era ng'alina omukazi omu. Abaana be bateekwa okuba nga bakkiriza, era nga tebabalirwa mu balalulalu, wadde mu batali bawulize, kubanga omulabirizi nga bw'ali omuweereza wa Katonda, ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, nga teyeekulumbaza, nga tasunguwala mangu, nga tatamiira, nga si mukambwe, era nga talulunkanira byakufuna. Wabula ateekwa okuba ng'amanyi okwaniriza abagenyi, era ng'ayagala obulungi, nga mwegendereza, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng'amanyi okwefuga. Ateekwa okuba omuntu anywerera ku bigambo eby'amazima, nga bwe yabiyigirizibwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bw'abo abagiwakanya. Waliwo bangi abajeemu, naddala abamu ku bakomole, aboogera ebitaliimu era abalimba. Abo basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitasaana, balyoke beefunire amagoba amabi. Omu mu bo, era omulanzi yagamba nti: “Ab'e Kureete bulijjo balimba; zensolo embi, ze mbuto engayaavu!” Kye yagamba kya mazima. N'olwekyo, oteekwa okubanenyanga n'amaanyi, balyoke babe n'okukkiriza okutuufu. Balemenga okussa omutima ku nfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya, wadde ku biragiro, abantu abagaana amazima bye bagunja. Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu. Naye eri abo abatali balongoofu n'abatakkiriza, tewaba kirongoofu, kubanga amagezi gaabwe n'ebirowoozo byabwe byayonooneka. Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu; tebasaanira mulimu mulungi na gumu. Naye ggwe yigirizanga ebyo ebitabagana n'enjigiriza entuufu. Kubirizanga abasajja abakulu babenga bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abatuukiridde mu kukkiriza, mu kwagala, ne mu kugumiikiriza. Abakazi abakulu nabo bakubirizenga bw'otyo, babenga n'empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira. Bateekwa okuyigirizanga ebirungi, balyoke bagunjule abakazi abato okwagalanga babbaabwe n'abaana baabwe. Era babenga beegendereza, abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe; ab'ekisa era abawulize eri babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga kuvvoolebwa. N'abavubuka bakubirizenga babenga beegendereza. Era ggwe oteekwa okuba ekyokulabirako ekirungi mu byonna by'okola, ng'oli mwesimbu era ow'amazima mu kuyigiriza kwo. Buli ky'oyogera kiteekwa okuba ekituufu, era nga tekiriiko kye kinenyezebwamu, oyo akiwakanya alyoke aswale, olw'obutaba na kibi ky'atwogerako. Kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe, era babasanyusenga mu byonna, nga tebabawakanya, wadde okubabbako ebyabwe. Naye balagenga obwesigwa obw'amazima mu byonna, abantu balyoke basiime enjigiriza ya Katonda Omulokozi waffe. Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna okulokolebwa kirabise. Era kituyigiriza okulekayo obutassaamu Katonda kitiibwa, n'okulekayo okwegomba kw'ensi, tulyoke tube bateefu, abeesimbu, era abassaamu Katonda ekitiibwa nga tuli ku nsi kuno, era tube nga tulindirira olunaku olw'omukisa lwe tusuubira, era nga tulindirira okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Kristo oyo yeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bibi byaffe byonna, atufuule abantu be abalongoofu, abanyiikirira okukola ebirungi. Ebyo by'obanga oyogera ng'obuulirira, era ng'onenya abantu bo n'obuyinza bwonna. Tewabangawo akunyooma. Jjukizanga abantu bo beegenderezenga abafuzi n'ab'obuyinza, babawulirenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. Bakuutire balemenga kwogera bubi ku muntu n'omu, era beewalenga okuyomba; babenga bakkakkamu, era bassengamu abantu bonna ekitiibwa, kubanga naffe ffennyini edda twali basirusiru era bajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n'amasanyu aga buli ngeri. Twali ba ttima era ab'obuggya, nga tukyayibwa, era nga tukyawagana. Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe, n'okwagala kwe, kw'ayagalamu abantu bwe byalabika, n'atulokola, si lwa bikolwa byaffe ebirungi bye twakola, wabula lwa kusaasira kwe. Yatulokola ng'atunaaza, ne tuzaalibwa omulundi ogwokubiri, ne tufuuka abaggya olwa Mwoyo Mutuukirivu, gwe yatubunduggulako ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. Ekyo yakikola tulyoke tutukuzibwe olw'ekisa kye, era tuweebwe obulamu obutaggwaawo, bwe tusuubira. Ekyo kya mazima. Era ebyo njagala obikakasizenga ddala, abakkiriza Katonda balyoke beemalirenga ku kukola ebikolwa ebirungi. Ebyo birungi era bigasa abantu. Naye weewalenga empaka ez'obusiru, n'okukaayana ku nkalala z'amannya g'abajjajja b'abantu. Era weewalenga okuwakanira ebikwata ku Mateeka. Kubanga ebyo tebiriiko kye bigasa, era bya bwereere. Oyo aleetera abantu obutassa kimu, bw'omalanga okumulabula omulundi ogusooka era n'ogwokubiri, ng'omuleka, kubanga omanyi nti omuntu ng'oyo aba mukyamu, era mwonoonyi, era aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. Bwe ndikutumira Aritema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga eyo gye mmaliridde okubeera mu biseera eby'obutiti. Fuba nga bw'osobola okutegekera Zeena munnamateeka ne Apollo olugendo lwabwe, era olabe nti balina buli kimu kye beetaaga. Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa. Bonna abali nange bakulamusizza. Lamusa abatwagala, bwe tulina okukkiriza okumu. Katonda akukwatirwenga ekisa. Nze Pawulo eyasibibwa olwa Kristo Yesu, era ne Timoteewo muganda waffe, tuwandiikira ggwe Filemooni omwagalwa, era mukozi munnaffe, ne Affiya mwannyinaffe, ne Arukipo muserikale munnaffe, n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekikuŋŋaanira mu nnyumba yo. Katonda Kitaffe, ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe. Bulijjo nkusabira bwe mba nga nsinza Katonda wange, ne mmwebaza, kubanga bambuulira nga bw'okkiriza Mukama waffe Yesu, era nga bw'oyagala abantu ba Katonda bonna. Era nsaba Katonda nti okussa ekimu n'abalala mu kukkiriza kwo, kukusobozese okutegeerera ddala ebirungi byonna bye tufunira mu Kristo. Owooluganda, okwagala kwo kunsanyusa nnyo ne njaguza, kubanga emitima gy'abantu ba Katonda wagizzaamu amaanyi. Kale newaakubadde nga ku lwange nandisobodde okukulagira ky'osaanidde okukola, naye okwagala kumpalirizza okukwegayirira obwegayirizi, newaakubadde nga ndi Pawulo, omubaka wa Kristo era kaakano omusibe we. Nkwegayirira olw'omwana wange Onesimo, gwe nzaalidde mu busibe bwange. Edda yali takugasa, naye kaakano ffembi, ggwe nange, atugasa. Mmukuweerezza, ye gwe mutima gwange. Nandyagadde mbeere naye wano, annyambe mu kifo kyo, mu busibe bwange olw'Amawulire Amalungi. Naye saagadde kukola kintu na kimu nga tokkirizza. Nandyagadde ekirungi ky'okola okikole nga towaliriziddwa, wabula nga weeyagalidde. Kiyinzika nti Onesimo yakwawukanako akaseera akatono, olyoke omweddize, abeerenga naawe bulijjo, kaakano nga takyali muddu buddu, wabula nga wa muwendo okusinga omuddu, kubanga waaluganda omwagalwa, naddala eri nze. Ate eri ggwe kisingawo, kubanga muganda wo mu mubiri, ate era muganda wo mu Mukama waffe. Kale oba nga ndi munno, yaniriza Onesimo nga bwe wandiyanirizza nze. Oba ng'aliko kye yakusobya, oba oliko ky'omubanja, ebyo bisse ku nze. Nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange gwennyini, nti nze ndisasula, newaakubadde nga naawe wennyini, obulamu bwo nze mbuyimirizzaawo. Kale owooluganda, njagala nkufunemu omugaso mu Mukama, omutima gwange oguzzeemu amaanyi mu Kristo. Olw'obuwulize bwo, mpandiise nga neesiga nti ojja kukola kye ŋŋamba. Era ekirala, ntegekera aw'okusula, kubanga nsuubira nti olw'okusaba kwammwe, ndibaddizibwa. Epafura, musibe munnange olwa Kristo Yesu, akulamusizza. Era Mariko ne Arisitaruuko ne Dema era ne Lukka bakozi bannange, nabo bakulamusizza. 14; 2 Tim 4:10,11 Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa. Edda Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe emirundi mingi era mu ngeri nnyingi, ng'ayita mu balanzi. Naye mu biseera bino eby'oluvannyuma, ayogedde naffe ng'ayita mu Mwana we, gwe yateekawo okuweebwa byonna, era gwe yayitamu okutonda ebintu byonna. Mu ye ekitiibwa kya Katonda mwe kirabikira, era mu ye mwe tulabira ddala Katonda nga bw'afaanana. Era ye awanirira ebintu byonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala okusobozesa ebibi by'abantu okusonyiyibwa, n'atuula mu ggulu ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza. Omwana yaweebwa ekitiibwa ekisinga ekya bamalayika, nga bwe yaweebwa erinnya erisinga agaabwe. Kubanga ani ku bamalayika, Katonda gwe yali agambye nti: “Oli Mwana wange, olwaleero nkuzadde”? Oba nti: “Ndiba Kitaawe, naye n'aba Mwana wange”? Era ate Katonda bwe yali ng'ali kumpi okutuma mu nsi Omwana we omuggulanda, yagamba nti: “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.” Bw'ayogera ku bamalayika agamba nti: “Katonda afuula bamalayika be ng'empewo, n'abaweereza be abafuula ennimi ng'ez'omuliro.” Kyokka bw'ayogera ku Mwana, agamba nti: “Entebe yo ey'obwakabaka, ayi Katonda, ebeerawo emirembe n'emirembe. N'obwakabaka bwo obufugisa bwenkanya. Oyagala abantu bakole ebituufu, n'okyawa abantu okukola ebikyamu. Katonda, Katonda wo, kyeyava akufukako omuzigo okukuwa ekitiibwa, n'osanyuka okusinga banno.” Era agamba nti: “Ggwe, Mukama, mu kusooka watonda ensi, n'eggulu ggwe walikola wennyini. Byo biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ng'ekyambalo. Olibizingako ng'omunagiro, era birikyusibwa ng'ekyambalo. Naye ggwe tokyukako, n'obulamu bwo tebulikoma.” Kale ani ku bamalayika, Katonda gwe yali agambye nti: “Tuula ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo, ekirinnyibwako ebigere byo”? Kale bamalayika bonna, si gye myoyo egiweereza Katonda, gy'atuma okuyamba abo ab'okulokolebwa? N'olwekyo kyetuva tuteekwa okunywerera ddala ku ebyo bye twawulira, sikulwa nga tubivaako. Oba ng'ebyo ebyayogerwa bamalayika byakakasibwa nga bya mazima, era buli ataabigobereranga, oba eyabijeemeranga, yaweebwanga ekibonerezo ekimusaanira, kale ffe tuliwona tutya ekibonerezo, bwe tuligayaalirira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo Mukama yennyini ye yasooka okubutegeeza abantu, era abo abaabuwulira, ne batukakasa nga bwe buli obw'amazima. Ne Katonda yennyini n'akakasa ebigambo byabwe, ng'akola ebyewuunyo n'ebyamagero era n'eby'amaanyi ebitali bimu, era ng'agaba n'ebirabo bya Mwoyo Mutuukirivu nga bwe yayagala. Katonda teyawa bamalayika kufuga nsi gye twogerako, egenda okubaawo. Naye omu, waliwo w'akakasiza mu byawandiikibwa, ng'agamba nti: “Omuntu ataliiko bw'ali, lwaki omulowoozaako? Era omuntu obuntu, lwaki omulumirwa? Wamutonda n'abulako katono okwenkana bamalayika. Wamutikkira engule eyeekitiibwa n'ettendo, n'omuwa okufuga ebintu byonna bye wakola. Ebintu byonna wabiteeka mu buyinza bwe.” Bwe yassa ebintu byonna mu buyinza bwe, talina kintu na kimu ky'ataamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba nga byonna abifuga. Wabula gwe tulaba ye Yesu. Olw'ekisa kya Katonda, yakolebwa n'abulako katono okwenkana bamalayika, alyoke afiirire abantu bonna. Tumulaba ng'atikkiddwa engule eyeekitiibwa n'ettendo, olw'okufa kwe. Katonda eyatonda ebintu byonna era abibeesaawo, yasiima okuleeta abaana be abangi mu kitiibwa. N'olwekyo yalaba nga kisaanye okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe, ng'ayita mu kubonaabona, kubanga abo abatukuzibwa era n'oyo abatukuza, bonna balina Kitaabwe omu. Era Yesu kyava takwatibwa nsonyi okubayita baganda be. Agamba nti: “Ndikumanyisa mu baganda bange, ndikutenderereza mu kkuŋŋaaniro wakati.” Era agamba nti: “Nja kwesiganga Katonda.” Era yeeyongera n'agamba nti: “Ndi wano n'abaana, Katonda be yampa.” Kale abo Yesu b'ayita abaana nga bwe bali abantu, naye yennyini yafuuka omuntu nga bo. Yakola bw'atyo, alyoke asobole okufa, era mu kufa kwe, azikirize Sitaani alina obuyinza ku kufa, bw'atyo alyoke awe eddembe abo bonna abaali abaddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa. Mazima, bamalayika si be yajjirira okuyamba, wabula yajjirira kuyamba bazzukulu ba Aburahamu. Kyeyava afaanana nga baganda be mu byonna, alyoke aweereze Katonda nga Ssaabakabona ow'ekisa era omwesigwa, asonyiyisa abantu ebibi byabwe. Era kaakano asobola okuyamba abo abakemebwa, kubanga ye yennyini yakemebwa era n'abonaabona. Kale abooluganda era abantu ba Katonda, abaayitibwa okugabana ku bulamu obw'omu ggulu, mulowooze ku Yesu, Omutume era Ssaabakabona ow'eddiini gye tukkiriza. Yali mwesigwa eri Katonda eyamulonda okukola omulimu ogwo, nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. Naye ng'omuzimbi bw'aba n'ekitiibwa ekisinga eky'ennyumba gye yazimba, bw'atyo ne Yesu asaanira ekitiibwa ekisinga ekya Musa. Buli nnyumba ebaako eyagizimba. Naye eyazimba byonna ye Katonda. Ne Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. Yali muweereza eyakakasa ebyo Katonda bye yali agenda okwogera. Kyokka Kristo mwesigwa ng'Omwana akulira ennyumba ya Katonda. Ffe nnyumba ya Katonda, kasita tusigala bulijjo nga tuli banywevu, nga tulina essuubi eryo lye tweyagaliramu. Kale nga Mwoyo Mutuukirivu bw'agamba: “Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe, nga bajjajjammwe bwe baajeema ku lunaku lwe baakemerako Katonda mu ddungu. Eyo gye bankemera ne bangeza, ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana. Kyennava nsunguwalira abantu abo, ne ŋŋamba nti: ‘Bulijjo baba bakyamu mu kulowooza kwabwe, tebamanyanga mateeka gange.’ Nasunguwala ne ndayira nti: ‘Siribawa kiwummulo n'akatono.’ ” Kale, abooluganda, mwegendereze, waleme kubaawo n'omu ku mmwe aba n'omutima omukakanyavu era ogutakkiriza, n'ava ku Katonda Nnannyinibulamu. Mu kifo ky'okuva ku Katonda, mubuuliriragane buli lunaku, nga “Olwaleero” lukyaliwo, waleme kubaawo n'omu ku mmwe obulimba bw'ekibi gwe bukakanyaza omutima, kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, kasita tunywereza ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, ne tubutuusa ku nkomerero. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Olwaleero bwe munaawulira eddoboozi lya Katonda, temukakanyaza mitima gyammwe, nga bajjajjammwe bwe beewaggula ku Katonda.” Be baani abaawulira eddoboozi lya Katonda ne bamujeemera? Be bo bonna Musa be yakulembera n'abaggya mu Misiri. Era be baani Katonda be yasunguwalira okumala emyaka amakumi ana? Be bo abaayonoona, ne bafa, era emirambo gyabwe ne gisigala mu ddungu. Era be baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Be bo abaamujeemera. Kale tulaba nti baalemwa okuyingira lwa butakkiriza bwabwe. Ekyo Katonda kye yatusuubiza eky'okuyingira mu kiwummulo kye, kikyaliwo. Kale tutye, sikulwa nga wabaawo ku mmwe alemwa okuyingira mu kiwummulo ekyo. Naffe twawulira Amawulire Amalungi, nga nabo bwe baagawulira. Naye bye baawulira, tebyabagasa, kubanga bwe baabiwulira, tebaabikkiriza. Ffe abakkiriza, ffe tuyingira mu kiwummulo ekyo, nga Katonda bwe yagamba nti: “Nasunguwala ne ndayira nti: ‘Siribawa kiwummulo n'akatono.’ ” Kino yakyogera, newaakubadde ng'emirimu gye gyaggwa, bwe yamala okutonda ensi. Olunaku olw'omusanvu lulina we lwogererwako, awagamba nti: “Katonda n'awummula emirimu gye gyonna ku lunaku olw'omusanvu.” Kino era kyogerwako nti: “Siribawa kiwummulo n'akatono.” Abo abaasooka okuwulira Amawulire Amalungi, tebaayingira mu kiwummulo ekyo, olw'obutakkiriza bwabwe. N'olwekyo waliwo abalala abakkirizibwa okuyingira. Ekyo kiri bwe kityo, kubanga Katonda yateekawo olunaku oluyitibwa “Leero.” Nga wayiseewo emyaka mingi, Katonda alwogerako ng'ayita mu Dawudi, nga bwe twagambye waggulu nti: “Leero bwe munaawulira eddoboozi lya Katonda, temukakanyaza mitima gyammwe.” Singa Yoswa yabatuusa mu kiwummulo, oluvannyuma Katonda teyandyogedde ku lunaku lulala. N'olwekyo abantu ba Katonda bakyalinawo ekiwummulo eky'oku lunaku olw'omusanvu, kubanga buli muntu, Katonda gw'awa ekiwummulo, awummula emirimu gye, nga Katonda bwe yawummula egigye. Kale tufubenga okufuna ekiwummulo ekyo, waleme kubaawo alemwa kuyingira olw'okujeema nga bali. Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola, era kyogi okusinga ekitala ekirina obwogi ku njuuyi zaakyo zombi. Kiyingirira ddala munda, ne kituuka n'okwawula omutima n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyekenneenya ebirowoozo n'okufumiitiriza okw'omu mutima. Tewali kitonde na kimu kiyinza kwekweka Katonda. Ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa Katonda, era oyo gwe tugenda okuwoleza. Kale tunywereze ddala okukkiriza kwaffe kwe twatula, kubanga tulina Ssaabakabona omukulu bw'atyo, Yesu Omwana wa Katonda, eyayingirira ddala eri Katonda. Ssaabakabona gwe tulina, alumirwa wamu naffe, mu bunafu bwaffe, kubanga mu byonna yakemebwa nga ffe bwe tukemebwa, kyokka n'atakola kibi. Kale tugume okusemberera entebe ya Katonda nnannyini kisa, alyoke atusaasire, era atukwatirwe ekisa buli lwe tuba twetaaga okuyambibwa. Buli ssaabakabona, alondebwa mu bantu n'ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe. Awaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda olw'ebibi byabwe. Asobola okukwata empola abo abatamanyi n'abawaba, kubanga naye yennyini munafu mu bintu bingi. Era olw'obunafu obwo, ateekwa okuwaayo ebitambiro olw'ebibi bye, nga bw'awaayo olw'ebibi by'abantu abalala. Tewali ayinza kwewa kitiibwa ekyo, okuggyako oyo Katonda gw'ayise, nga Arooni bwe yayitibwa. Bw'atyo ne Kristo teyeewa yekka kitiibwa kya bwa ssaabakabona, wabula kyamuweebwa Katonda eyamugamba nti: “Oli Mwana wange, olwaleero nkuzadde.” Era awalala Katonda agamba nti: “Ggwe oli kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Melikizeddeki.” Yesu mu bulamu bwe obw'oku nsi, mu ddoboozi ery'omwanguka ne mu maziga, yeegayirira era n'asaba Katonda eyalina obuyinza okumuwonya okufa. Era yawulirwa, kubanga yassangamu Katonda ekitiibwa. Newaakubadde nga yali Mwana wa Katonda, yayiga obuwulize, ng'abuyigira mu ebyo bye yabonaabonamu. Bwe yamala okutuukirira, n'afuuka ensulo y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamugondera, era Katonda n'amufuula Ssaabakabona mu lubu lwa Melikizeddeki. Tulina bingi eby'okwogera ku ekyo, era ebizibu okubannyonnyola, kubanga muteegera mpola. Kuba newaakubadde nga kaakano mwandibadde muli bayigiriza, naye era mukyetaaga ow'okubayigiriza ebisookerwako mu kuyiga ekigambo kya Katonda. Era mukyasaanira mata, sso si mmere nkalubo. Buli akyasaanira amata, aba akyali mwana muto, atayawula kituufu na kikyamu. Naye emmere enkalubo ya bantu bakulu, abamaze okuyiga ne bamanya okwawula ekirungi n'ekibi. Kale ka tuleke ebyo ebisookerwako mu kunnyonnyola ku Kristo,tweyongere mu maaso okuyiga ebisingawo era eby'ekikulu mu kumukkiriza. Twabayigiriza dda ebigambo ebiri ng'omusingi, era tetwetaaga kubiddamu. Mumanyi bwe kitagasa okgezaakookulokolebwa nga tuyita mu bikolwa byaffe, era mumanyi obukulu obuli mu kukkiriza Katonda. Twabayigiriza dda ebifa ku kubatizibwa okwa buli ngeri, n'okussibwako emikono. Mumanyi ebifa ku kuzuukira ne ku kusalirwa omusango okutalikyukako. Kaakano ka tugende ku bikulu, era ekyo kye tunaakolanga, Katonda ng'ayagadde. Kubanga abo abaamala okufuna ekitangaala kya Katonda, ate ne bakivaamu, tekiriyinzika kubakomyawo mu kwenenya. Baalega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu. Baamanya obulungi bw'ekigambo kya Katonda, era n'amaanyi ag'emirembe egigenda okujja. Ate kaakano baddamu okukomerera ku musaalaba Omwana wa Katonda, era ne bamuswaza mu lwatu. Ettaka erinywa enkuba eritonnyako emirundi emingi, ne likuza ebimera abalirima bye beetaaga, Katonda aliwa omukisa. Naye bwe likuza amaggwa n'omuddo, liba terikyagasa, era nga lirindiridde kuvumirirwa na kuzikirizibwa muliro. Naye abaagalwa, newaakubadde nga twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusaamu. Tumanyi nti muli bulungi, era muli mu kkubo eritutuusa mu kulokolebwa, kubanga Katonda mwenkanya, tayinza kwerabira mulimu gwe mwakola, n'okwagala kwe mwamulaga mu buyambi bwe mwawa, era bwe muwa abantu be. Era twagala nno buli omu mu mmwe okulaganga obunyiikivu obwo, okutuusa ku nkomerero, lwe mulifuna kye musuubira. Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng'abo abakkiriza era abagumiikiriza, ne bafuna ebyasuubizibwa. Katonda bwe yasuubiza Aburahamu, yeerayirira yekka, kubanga tewaaliwo amusinga bukulu, gw'ayinza kulayira. Yagamba nti: “Mazima ndikuwa omukisa, ne njaza ezzadde lyo.” Aburahamu yagumiikiriza, bw'atyo n'afuna Katonda kye yamusuubiza. Abantu balayira oyo abasinga obukulu, era ekirayiro bwe bukakafu obusalawo empaka zaabwe zonna. Katonda kyeyava alayira, akakase bye yasuubiza. Yayagala okukakasiza ddala abo abalifuna ebyasuubizibwa, nti bye yasuubiza talibikyusa. Katonda yakola ebintu bibiri ebitajjulukuka, era by'atayinza kulimbiramu: yasuubiza, era n'alayira. N'olwekyo ffe abadduka okunoonya obubudamo mu ye, tuddamu nnyo amaanyi, ne tunyweza essuubi lye tuluubirira. Essuubi eryo lye linywereza ddala emitima gyaffe ng'ennanga bw'enyweza eryato. Era liyingirira ddala mu kifo ekitukuvu, ekiri emabega w'olutimbe, Yesu gye yatusooka okuyingira ku lwaffe, ng'afuuse Ssaabakabona mu lubu lwa Melikizeddeki. Melikizeddeki oyo yali kabaka w'e Saalemu era kabona wa Katonda Atenkanika. Aburahamu bwe yali ng'ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Melikizeddeki n'amusisinkana, era n'amuwa omukisa. Aburahamu n'awa Melikizeddeki oyo ekitundu ekimu eky'ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Melikizeddeki litegeeza “Kabaka ow'emirembe.” Ebimwogerako tebyogera ku kitaawe wadde nnyina, wadde bajjajjaabe. Era tebyogera na ku lunaku lwe yazaalirwako, wadde lwe yafiirako. Afaanaanyirizibwa n'Omwana wa Katonda, aba Kabona ow'olubeerera. Kale mulabe ng'omuntu oyo bwe yali omukulu! Aburahamu jjajjaffe omukulu yamuwa ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebyo bye yanyaga. Bazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, Amateeka gabalagira okusolooza ku bantu ekitundu ekimu eky'ekkumi, newaakubadde ng'abantu abo baganda baabwe, kwe kugamba nabo bazzukulu ba Aburahamu. Melikizeddeki si muzzukulu wa Leevi, kyokka yaggya ku Aburahamu ekitundu ekimu eky'ekkumi, era n'amuwa omukisa, sso nga Aburahamu ye yasuubizibwa. Tewali kubuusabuusa, omukulu ye awa omuto omukisa. Bwe twogera ku bakabona, ekitundu ekimu eky'ekkumi kifunibwa abantu abafa. Naye ku Melikizeddeki, kifunibwa oyo akakasibwa Ebyawandiikibwa nti mulamu. Oyinza okugamba nti Leevi yennyini aweebwa ekitundu ekimu eky'ekkumi, naye yakiweerayo mu Aburahamu, kubanga yali ng'akyali mu ntumbwe za jjajjaawe Aburahamu, Melikizeddeki bwe yamusisinkana. Amateeka gaaweebwa abantu ba Yisirayeli nga geesigamye ku bwakabona bwa Baleevi. Kale singa omulimu gwa bakabona Abaleevi gwali gutuukiridde, tewandyetaagiddwawo kabona mulala okujja, nga wa lubu lwa Melikizeddeki, olutali lwa Arooni. Obwakabona bwe bukyusibwa, era n'amateeka tegalema kukyusibwa. Mukama waffe ayogerwako ebigambo ebyo, wa mu kika kirala omutavanga muntu n'omu kuweereza nga kabona. Kimanyiddwa nti yava mu kika kya Yuda, Musa ky'atayogerangako nti kirivaamu bakabona. Ebyo byeyongera okutegeerekeka, bwe wasitukawo kabona omulala ali nga Melikizeddeki, ataalondebwa kusinziira ku mateeka n'ebiragiro ebifuga abantu, wabula ku buyinza bw'obulamu obutakoma. Oyo ayogerwako nti: “Oli kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Melikizeddeki.” Ekiragiro ekyasooka, kyadibizibwa olw'obunafu n'obutagasa bwakyo, kubanga Amateeka tegaliiko kye gaatuukiriza. Kaakano kyewaava waleetebwawo essuubi erisingawo, erituleetera okusemberera Katonda. Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Bo Abaleevi baafuulibwa bakabona nga tewali kirayiro. Naye Yesu yafuulibwa kabona nga waliwo ekirayiro, Katonda bwe yamugamba nti: “Mukama yalayira, era talyejjusa: Oli kabona emirembe gyonna.” Yesu kyeyava afuuka omuyima w'endagaano esinga obulungi. Bakabona bali baali bangi, kubanga baafanga, ne batasobola kusigalawo bbanga lyonna. Naye Yesu nga bw'ali omulamu emirembe gyonna, obwakabona bwe bwa lubeerera. Kyava ayinza bulijjo okulokola abo abajja eri Katonda nga bayita mu ye, kubanga abeera mulamu ennaku zonna, okubawolerezanga. N'olwekyo Ssaabakabona ng'oyo omutuukirivu, ataliiko kisobyo, ataliiko bbala, atabalirwa mu babi, era eyagulumizibwa okukira eggulu, ye yatusaanira. Tali nga bassaabakabona abalala. Teyeetaaga kuwaayo buli lunaku bitambiro: okusooka olw'ebibi bye, n'oluvannyuma olw'ebibi by'abalala. Yawaayo ekitambiro omulundi gumu, bwe yeewaayo ye yennyini. Amateeka be galonda okuba bassaabakabona, bantu buntu abalina obunafu. Naye ekigambo ky'ekirayiro kya Katonda ekyaddirira Amateeka, kyalonda Mwana omutuukirivu emirembe gyonna. Ekigambo ekikulu mu bye twogedde kye kino: Ssaabakabona gwe tulina bw'atyo bwe yenkana, era atudde ku ludda olwa ddyo olw'entebe ey'obwakabaka eya Nnannyinibuyinza mu ggulu. Aweereza nga Ssaabakabona mu Kifo Ekitukuvu era mu Weema yennyini etaateekebwawo muntu, wabula Mukama. Buli ssaabakabona ateekebwawo okuwaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda. Ne Ssaabakabona waffe kyava agwanira okubaako ne ky'awaayo. Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng'Amateeka bwe galagira. Kye bakola kifaananako bufaananyi, era kisiikirize eky'ebyo ebikolebwa mu ggulu. Ne ku Musa bwe kyali. Bwe yali ng'agenda okukola eweema, Katonda yamulagira nti: “Byonna bikole ng'ogoberera ekyakulagibwa ku lusozi.” Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n'endagaano gy'alimu ng'omutabaganya, ye esinga obulungi, n'ebisuubizo kw'enyweredde, bye bisinga obulungi. Singa endagaano eyasooka teyaliiko ky'enenyezebwamu, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. Naye Katonda ayogera ng'anenya abantu be nti: “Mukama agamba nti: Ekiseera kirituuka, ne nkola endagaano empya n'abantu ba Yisirayeli, era n'ekika kya Yuda. Teriba ng'endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe, ku lunaku lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri, kubanga tebaanywerera ku ndagaano eyo. Nange kyennava ndekayo okubawuliriza. Bw'atyo Mukama bw'ayogera. Eno ye ndagaano gye ndikola n'Abayisirayeli ennaku ezo bwe zirituuka, bw'atyo Mukama bw'ayogera. Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe. Era ndigawandiika mu mitima gyabwe. Ndiba Katonda waabwe, nabo ne baba bantu bange. Tewaliba ayigiriza munne, wadde ayigiriza muganda we nti: ‘Manya Mukama.’ Okuviira ddala ku muto okutuuka ku mukulu, bonna balimmanya. Ndibasonyiwa okwonoona kwabwe, n'ebibi byabwe siribijjukira nate.” Katonda bw'ayogera ku ndagaano empya, aba akaddiyizza eyo eyasooka. Naye ekyo ekikula ne kikaddiwa, kiba kiri kumpi okuggwaawo. Era n'endagaano eyasooka yalina amateeka agaagobererwanga mu kusinza Katonda, era yalina n'ekifo ekitukuvu eky'oku nsi. Waateekebwawo ne weema omwali ekikondo ky'ettaala, emmeeza, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda. Ekitundu ekyo nga kiyitibwa Ekifo Ekitukuvu. Emabega w'olutimbe olwokubiri, we waali Eweema eyitibwa Entukuvu Ennyo. Mu yo mwalimu ekyoterezo ky'obubaane, ekyakolebwa mu zaabu. Era mwalimu essanduuko ey'endagaano, ebikkiddwako zaabu enjuyi zonna. Mu ssanduuko eyo, mwalimu ekibya ekya zaabu, omwali mannu. Era mwalimu omuggo gwa Arooni ogwaloka, n'ebipande eby'amayinja okuwandiikiddwa ebiragiro bya Katonda. Kungulu ku yo kwaliko bakerubi abeekitiibwa, abasiikirizza entebe ya Katonda nnannyini kusaasira. Ebyo byonna tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu. Ebyo byonna nga bimaze okutereezebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga bulijjo mu weema esookerwako, ne batuukiriza omulimu gwabwe. Naye mu weema eyookubiri, mwayingirwangamu Ssaabakabona yekka, ng'ayingiramu omulundi gumu buli mwaka, era ng'ateekwa okutwalayo omusaayi gw'awaayo ku lulwe, ne ku lw'ebyonoono by'abantu bye bakola mu butamanya. Mu bino byonna Mwoyo Mutuukirivu alaga nti ekkubo erituuka mu Kifo Ekitukuvu Ennyo lyali terinnamanyika, ng'eweema esookerwako ekyayimiriddewo. Ekyo kyali kifaananyi bufaananyi eky'ebyo ebiriwo kati. Ebirabo n'ebitambiro ebyo ebyaweebwangayo, tebyayinzanga kutukuza mwoyo gw'oyo abiwaayo. Byakomanga ku bya kungulu, ebifa ku kulya ne ku kunywa ne ku bulombolombo obw'okwetukuza, ebyali eby'okubeerawo okutuusa ku kiseera eky'okuzza ebintu byonna obuggya. Naye Kristo bwe yajja nga ye Ssaabakabona w'ebirungi ebigenda okujja, yayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa bantu, kwe kugamba, eteri ya ku nsi kuno, n'ayingirira ddala omulundi gumu mu Kifo Ekitukuvu, ng'amaze okutufunira okununulibwa okutaggwaawo. Teyayingirayo na musaayi gwa mbuzi na gwa nnyana, wabula yayingirayo na musaayi gwe gwennyini. Omusaayi gw'embuzi n'ogw'ente ennume, n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abatali balongoofu, bibatukuza ne baba balongoofu mu byokungulu. Kristo ataliiko kamogo yeewaayo eri Katonda, mu maanyi ga Mwoyo ataggwaawo. Kale omusaayi gwe tegulisingawo nnyo okunaaza emyoyo gyaffe, ne tuweereza Katonda Nnannyinibulamu? N'olwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, kubanga abo abaasuubizibwa ebirungi ebitaggwaawo, abasobozesa okubifuna. Ekyo kisoboka, kubanga yafa n'anunula abantu mu bibi byabwe bye baakola nga bakyafugibwa endagaano eyasooka. Ekiraamo kikakata ng'eyakiraama amaze kufa. Ekiraamo tekikola ng'eyakiraama akyali mulamu, wabula amala kufa, ne kiryoka kikola. N'endagaano eyasooka kyeyava ekakasibwa n'omusaayi. Musa bwe yamala okutegeeza abantu ebiragiro byonna ebiri mu Mateeka, n'addira omusaayi gw'ennyana n'ogw'embuzi, wamu n'amazzi, n'ebyoya by'endiga ebimyufu, n'akati akayitibwa “Yisopu,” n'amansira ku kitabo ky'Amateeka ne ku bantu bonna, nga bw'agamba nti: “Guno gwe musaayi ogukakasa endagaano Katonda gy'abalagidde okutuukiriza.” Era mu ngeri ye emu, Musa n'amansira omusaayi ku weema ne ku bintu byonna ebikozesebwa mu kusinza. Era mu Mateeka, kumpi buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi, tewabaawo kusonyiyibwa bibi. Ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu byasaanira okutukuzibwa bwe bityo. Naye eby'omu ggulu byennyini, byetaaga okutukuzibwa n'ebitambiro ebisinga obulungi. Kristo teyayingira mu Kifo Ekitukuvu ekyakolebwa abantu, nga kifaanana bufaananyi nga kiri kyennyini, wabula yayingira mu ggulu lyennyini, gy'ali kaakano, mu maaso ga Katonda ku lwaffe. Kristo teyayingira kwewaayo mirundi mingi, nga Ssaabakabona bw'ayingira buli mwaka mu Kifo Ekitukuvu okuwaayo omusaayi ogutali gugwe. Olwo Kristo yandibadde ateekwa okubonaabona emirundi mingi okuviira ddala ensi lwe yatondebwa. Naye kaakano yalabika omulundi gumu, mu mirembe gino egikomererayo, alyoke aggyewo ekibi, olw'okwewaayo yennyini. Era nga buli muntu bw'afa omulundi ogumu, era bw'amala okufa, n'asalirwa omusango, era ne Kristo bw'atyo. Yaweebwayo omulundi gumu okwetikka ebibi by'abangi. Alijja omulundi ogwokubiri, nga tazze kuddamu kulwanyisa kibi, wabula okuyimbula abo abamulindirira. Amateeka g'Ekiyudaaya, kisiikirize busiikirize eky'ebirungi ebigenda okujja, sso si kifaananyi kyabyo ekituufu. Tegasobola kutukuliza ddala abo abaddiŋŋana ebitambiro bye bimu, buli mwaka. Singa gaali gasobola okubatukuliza ddala, ebitambiro byandibadde tebikyaweebwayo, kubanga ababiwaayo bandibadde batukuliziddwa ddala omulundi gumu, nga tebakyemanyiiko kibi. Naye mu bitambiro ebyo, mulimu kujjukizibwa ebibi buli mwaka, kubanga omusaayi gw'ente ennume n'ogw'embuzi teguyinza kuggyawo bibi. Kristo ng'ajja mu nsi, kyeyava agamba Katonda nti: “Ebitambiro n'ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri. Ebyokebwa nga biramba, n'ebyo ebiweebwayo olw'ebibi, tewabisiima. Kyennava ŋŋamba nti: Nzuuno. Nzize okukola by'oyagala, ayi Katonda, ng'ekyawandiikibwa bwe kinjogerako mu kitabo ky'Amateeka.” Asooka kugamba nti: “Ebitambiro n'ebiweebwayo, n'ebyokebwa ebiramba, n'ebyo ebiweebwayo olw'ebibi, tewabyagala era tewabisiima.” Ekyo yakyogera, newaakubadde ng'ebyo byonna byaweebwangayo ng'Amateeka bwe galagira. Ate n'agamba nti: “Nzuuno. Nzize okukola by'oyagala.” N'olwekyo aggyawo ekisooka, alyoke anyweze ekyokubiri. Twatukuzibwa kubanga Yesu yakola ekyo Katonda ky'ayagala, bwe yawaayo omubiri gwe omulundi ogumu. Buli omu ku bakabona bali, ayimirira buli lunaku, n'awaayo emirundi mingi ebitambiro bye bimu, ebitayinza kuggyawo bibi. Naye Kristo yawaayo ekitambiro kimu kyokka ekyamala okuddaabiriza olw'ebibi, n'alyoka atuula emirembe gyonna, ng'aliraanye Katonda, ku ludda olwa ddyo. Eyo gy'alindira, okutuusa abalabe be lwe balifuulibwa ekirinnyibwako ebigere bye. Olw'okuwaayo ekitambiro ekyo ekimu, abo b'atukuza yabafunira obutuukirivu obw'emirembe gyonna. Era ne Mwoyo Mutuukirivu kino akitutegeeza. Asooka n'agamba nti: “Eno ye ndagaano gye ndikola nabo, ennaku ezo bwe zirituuka. Bw'atyo Mukama bw'ayogera. Nditeeka amateeka gange mu mitima gyabwe, era ndigawandiika mu magezi gaabwe.” Ate n'agamba nti: “N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate.” Ebyo bwe bimala okusonyiyibwa, waba tewakyaliwo kuwangayo kitambiro olw'ebibi. Kale abooluganda, kaakano tuyinza okuyingira mu Kifo Ekitukuvu nga tetulina kutya, kubanga Kristo yafa ku lwaffe, n'atuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe. Tulina kabona omukulu bw'atyo, afuga ennyumba ya Katonda. Kale tusembere eri Katonda n'omwoyo ogutaliimu bukuusa, ogujjudde okukkiriza, nga tulina emitima egitukuziddwa, ne giggwaamu omwoyo omubi, nga n'emibiri gyaffe ginaaziddwa n'amazzi amatukuvu. Tunyweze essuubi lye tulina tuleme kulivaako, kubanga Katonda eyasuubiza mwesigwa. Tussenga omwoyo ku kukubiriza bannaffe okwagalana n'okukola ebikolwa ebirungi. Tuleme kugayaaliriranga nkuŋŋaana z'abagoberezi ba Kristo, ng'abamu bwe bakola. Naye buli omu agumye munne, naddala nga bwe mulaba nti Olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka. Kuba singa twonoona mu bugenderevu nga tumaze okutegeezebwa amazima, waba tewakyaliwo kitambiro ekiweebwayo olw'ebibi. Ekiba kisigadde, kwe kuba mu kutya, nga tulindirira okusalirwa omusango, era n'obukambwe bw'omuliro ogugenda okwokya abalabe ba Katonda. Omuntu ajeemera amateeka ga Musa, attibwa awatali kusaasirwa, kasita wabaawo abajulirwa babiri oba basatu abamusingisa omusango. Kale omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era omusaayi ogw'endagaano ogwamutukuza, n'agulaba ng'ogutali mutukuvu, era n'anyoomoola Mwoyo ow'ekisa, mulowooza nti talisaanira ekibonerezo ekisingawo obukambwe? Tumanyi oyo eyagamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.” Era nti: “Mukama alisalira abantu omusango.” Kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda Nnannyinibulamu! Mujjukire ebiseera ebyayita, bye mwafuniramu ekitangaala kya Katonda, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw'amaanyi. Emirundi egimu mwavumibwa era ne mubonyaabonyezebwa mu lwatu, emirundi emirala ne mulumirwa wamu n'abo abaakolebwa bwe batyo. Mwalumirwa wamu n'abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu nga munyagiddwako ebyammwe, kubanga mwamanya nti mmwe mulina ebisingawo obulungi, era eby'olubeerera. Kale temusuulanga buvumu bwammwe, kubanga empeera yaabwo nnene. Mwetaaga okugumiikiriza, mulyoke mukole ebyo Katonda by'ayagala, era muweebwe kye yasuubiza. “Wasigadde akaseera katono nnyo, oyo ow'okujja, ajje, era talirwa. Omutuukirivu wange anaabeeranga mulamu, lwa kukkiriza. Kyokka bw'addayo emabega, sirimusaasira.” Naye ffe tetuli mu abo abadda emabega, ne bazikirira, wabula tuli mu abo abakkiriza, ne balokolebwa. Okukkiriza kitegeeza okukakasa nti ebyo ebisuubirwa tulibifuna, era bwe butabuusabuusa mu ebyo bye tutalaba. Okukkiriza, kwe kwaleetera abantu ab'edda okusiimibwa Katonda. Okukkiriza, kwe kutusobozesa okutegeera nti ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggyibwa mu bitalabika. Okukkiriza, kwe kwaleetera Abeli okuwaayo eri Katonda ekitambiro ekirungi okusinga ekya Kayini, ne kikakasa nti Abeeli mutuukirivu, kubanga Katonda yasiima ebirabo bye. Era olw'okukkiriza kwe, newaakubadde yafa, akyayogera. Okukkiriza, kwe kwaleetera Enoka okutwalibwa eri Katonda, nga tamaze kufa. Era oluvannyuma tewali yamulabako, kubanga Katonda yamutwala. Ekyo kyaba bwe kityo, kubanga bwe yali nga tannatwalibwa, kyakakasibwa nti yasanyusa Katonda. Tewali ayinza kusanyusa Katonda awatali kukkiriza, kubanga ajja eri Katonda, ateekwa okukkiriza nti Katonda waali, era nti agabira empeera abo abamunoonya. Noowa bwe yalabulwa Katonda ku byali bitannalabika, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwulira Katonda, n'azimba eryato okuwonya amaka ge. Bw'atyo yasalira ensi omusango, n'afuna obutuukirivu obuleetebwa okukkiriza. Okukkiriza, kwe kwaleetera Aburahamu okuwulira Katonda, bwe yamuyita ave ewaabwe alage mu nsi gye yali agenda okuweebwa. Bw'atyo n'agenda nga tamanyi gy'alaga. Era okukkiriza, kwe kwamuleetera okubeera mu nsi eyamusuubizibwa, n'agibeeramu ng'eri ng'etali yiye, ng'asula mu weema awamu ne Yisaaka ne Yakobo, nabo Katonda be yasuubiza ekintu kye kimu ekyo. Aburahamu yalindirira ekibuga Katonda kye yategeka, era kye yazimba, ekirina emisingi emigumu. Okukkiriza, kwe kwasobozesa Saara okuba olubuto, newaakubadde nga yali akaddiye. Yakkiriza nti Katonda eyamusuubiza, mwesigwa. N'olwekyo omuntu oyo omu Aburahamu, newaakubadde yali ng'afudde, yasibukamu abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, ogutabalika. Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebannafuna ebyo Katonda bye yasuubiza, wabula nga babirengerera wala, ne babyaniriza, nga bakakasa nti bagenyi era bayise ku nsi kuno. Abo aboogera bwe batyo, balaga nti waliwo awalala gye basuubira okusanga obutaka bwabwe. Era singa baajulirira ensi gye baavaamu, bandisobodde okuddayo. Naye kaakano beegomba obutaka obusinga obulungi, bwe bw'omu ggulu. Katonda kyava takwatibwa nsonyi kuyitibwa Katonda waabwe, kubanga yabateekerateekera ekibuga. Aburahamu, Katonda gwe yali asuubizza, bwe yagezebwa, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwaayo Yisaaka, omwana we omu yekka, abe ekitambiro. Katonda yali amugambye nti: “Mu Yisaaka mw'olifunira abazzukulu.” Aburahamu yamanya nti Katonda ayinza okuzuukiza abafu. Ne Katonda kyeyava amuddiza Yisaaka, ng'ali ng'avudde mu bafu. Okukkiriza, kwe kwasobozesa Yisaaka okusabira Yakobo ne Esawu omukisa mu ebyo ebyali bigenda okujja. Yakobo bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okusabira abaana ba Yosefu omukisa kinnoomu, n'akutama ku muggo gwe, n'asinza Katonda. Yosefu bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okwogera nti Abayisirayeli baliva mu Misiri, era n'alagira ebirikolebwa ku magumba ge. Musa bwe yazaalibwa, okukkiriza, kwe kwaleetera bazadde be okumukwekera emyezi esatu. Baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kuwakanya kiragiro kya kabaka. Musa bwe yakula, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okugaana okuyitibwa omwana wa muwala wa Faraawo. Yasiima okubonaabonera awamu n'abantu ba Katonda, okusinga okuba mu ssanyu ery'ekibi eriggwaawo amangu. Yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kusingira ddala wala obugagga bw'e Misiri, kubanga yamanya empeera gy'aliweebwa. Okukkiriza, kwe kwasobozesa Musa okuva e Misiri, n'atatya busungu bwa kabaka, kubanga yanywera, ng'ali ng'alaba Katonda atalabika. Okukkiriza, kwe kwamusobozesa okuteekawo Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'amansira omusaayi, Omuzikiriza aleme kutta baggulanda ba Bayisirayeli. Okukkiriza, kwe kwasobozesa Abayisirayeli okuyita mu Nnyanja Emmyufu, ng'abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako, amazzi ne gabasaanyaawo. Okukkiriza, kwe kwaleetera ebisenge by'Ekibuga Yeriko okugwa, nga bimaze ennaku musanvu nga byetooloolwa Abayisirayeli. Okukkiriza, kwe kwawonya malaaya Rahabu n'atazikiririra wamu n'abo abatakkiriza, kubanga yayaniriza abakessi. Nnyongereko ki ate? N'obudde bunaanzigwako bwe njogera ku Gidiyoni, Baraki, Samusooni, Yefuta, Dawudi, Samweli, ne ku balanzi. 16:1 Bassek 2:11; 1 Sam 1:1–25:1 Olw'okukkiriza, abo baawangula obwakabaka, ne bakola eby'obutuukirivu, era ne bafuna ebyo Katonda bye yasuubiza. Baabuniza obumwa bw'empologoma, ne bazikiza omuliro ogw'amaanyi, ne bawona obwogi bw'ekitala. Baali banafu, ne bafuuka ba maanyi. Baafuuka bazira mu ntalo, ne bagoba eggye ly'ab'amawanga amalala. Abakazi ne baweebwa abantu baabwe abazuukidde. Abantu abalala baabonyaabonyezebwa, ne bagaana okuteebwa, balyoke bazuukire okufuna obulamu obusinga obulungi. N'abalala baasekererwa ne bakubibwa era ne basibibwa, ne bateekebwa mu makomera. 38:6: Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi, nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, ne bayisibwa bubi, ensi nga tebasaanira. Ne batambulatambulanga mu malungu ne mu nsozi, nga basula mu mpuku ne mu binnya. Abo bonna Katonda yabasiima olw'okukkiriza kwabwe. Naye tebaafuna ebyo bye yasuubiza, kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi: bo baleme okutuukirizibwa, ffe nga tetuliiwo. Kale naffe nga bwe tulina abajulirwa abangi bwe batyo abatwetoolodde, tweyambule buli kintu ekituzitoowerera, era n'ekibi ekitwesibako. Twetabe mu mpaka ez'okudduka ezituteereddwawo, era tudduke nga tuli bagumiikiriza, nga tutunuulira Yesu yekka eyatandika era atuukiriza okukkiriza kwaffe. Yesu oyo, olw'essanyu lye yali alindirira, yagumira omusaalaba, n'atatya kuswala. Kaakano atudde ku ludda olwa ddyo olw'entebe ya Katonda. Mulowoozenga ku kuwakanyizibwa okwenkana awo, aboonoonyi kwe baamuwakanyaamu, mulyoke mulemenga okukoowa n'okuterebuka. Mu kulwanyisa ekibi, temunnalwana kutuuka ku kuyiwa musaayi gwammwe. Mwerabidde ebigambo ebibabuulirirwa Katonda ng'ayogera nammwe ng'abaana? Agamba nti: “Mwana wange, togayanga kukangavvula kwa Mukama. Era toddiriranga bw'akunenyanga, kubanga oyo Mukama gw'ayagala, amukangavvula, era abonereza buli gw'ayita omwana we.” Mugumiikirizenga okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng'abaana be. Kale mwana ki kitaawe gw'atakangavvula? Naye bwe mutakangavvulwa ng'abalala bwe bakangavvulwa, muba beeboolereze, sso si baana ddala. Twalina bakitaffe mu mubiri, abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa. Kale tetulisingawo nnyo okugondera Kitaffe mu mwoyo, ne tuba balamu? Bakitaffe abo baatukangavvuliranga ekiseera kitono olw'ebyo bye baayagalanga. Kyokka Katonda atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tugabane ku butukuvu bwe. Bwe tuba tukangavvulwa, mu kiseera ekyo okukangavvulwa kufaanana ng'okutaleeta ssanyu wabula obulumi. Naye oluvannyuma, abo abagunjulwa okukangavvulwa okwo, bafuna eddembe n'obutuukirivu. Kale muyimuse emikono gyammwe egiragaya, munyweze amaviivi gammwe agajugumira. Mutambulirenga mu makubo amagolokofu, awenyera aleme kulemala, wabula awone. Mufubenga okuba n'emirembe mu bantu bonna, era mufubenga okuba n'obutukuvu, kubanga we butali tewali aliraba Mukama. Mwerinde, waleme kubaawo yeefiiriza kisa kya Katonda. Mwerinde, waleme kubaawo bubi busituka mu mmwe, ne bubatabulatabula, era ne bwonoona bangi. Mwerinde, waleme kubaawo mwenzi, oba alulunkanira eby'ensi nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'olulya olumu. Mumanyi nti oluvannyuma, bwe yayagala okufuna omukisa, tegwamuweebwa, kubanga teyafuna ngeri ya kujjulula kye yali akoze, newaakubadde yagusaba ng'akaaba. Temuzze ng'Abayisirayeli bwe bajja ku Lusozi Sinaayi lwe muyinza okukwatako, era olwaka omuliro. Era temuzze eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga, n'okuvuga kw'eŋŋombe, n'eddoboozi ly'ebigambo, eryaleetera abaaliwulira okwegayirira baleme kweyongera kuliwulira. Tebaasobola kugumira kiragiro ekyabaweebwa, ekigamba nti: “Ne bw'eba nsolo n'etuuka ku lusozi, eteekwa okukubibwa amayinja efe!” Ddala ebyalabibwa byali bya ntiisa nnyo, Musa n'atuuka n'okugamba nti: “Ntidde nnyo, ne nkankana!” Naye mmwe muzze ku Lusozi Siyooni, era mu kibuga kya Katonda Nnannyinibulamu, Yerusaalemu eky'omu ggulu, bamalayika enkumi n'enkumi gye bakuŋŋaanidde. Muzze mu lukuŋŋaana olunene olw'abaggulanda abaawandiikibwa mu ggulu. Muzze eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatukuvu, abaatuukirizibwa. Muzze eri Yesu Omutabaganya ow'endagaano empya. Muzze eri omusaayi ogw'okumansira, ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abeeli. Mwerinde, muleme kugaana okussaayo omwoyo ku oyo ayogera. Abo abaagaana okuwulira eyabalabula ng'ali ku nsi, tebaawona, n'olwekyo ffe bwe tugaana okuwulira oyo atulabula ng'ali mu ggulu, tetulina we tuliwonera. Eddoboozi lye lyanyeenya ensi, naye kaakano yasuubiza nti: “Njija kuddamu okukankanya ensi, ku luno si nsi yokka, naye n'eggulu.” Okugamba nti “Njija kuddamu,” kitegeeza nti ebitonde ebinyeenyezebwa biriggyibwawo, olwo ebyo ebitanyeenyezebwa biryoke bisigalewo. Kale nga bwe tufuna obwakabaka obutanyeenyezebwa, twebazenga Katonda, era tumusinzenga nga bw'asiima, nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya, kubanga Katonda waffe, muliro, ayokya! Mwongere okwagalananga ng'abooluganda mu Kristo. Temwerabiranga kwaniriza bagenyi, kubanga waliwo abaayaniriza bamalayika nga tebamanyi. Mujjukirenga abasibe, nga muli ng'abaasibirwa awamu nabo. Era mujjukirenga abo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe mulina omubiri. Okufumbiriganwa kussibwengamu abantu bonna ekitiibwa, era obufumbo bukuumibwenga nga butukuvu, kubanga abakaba n'abenzi, Katonda alibasalira omusango. Mulemenga kuba ba mululu, bye mulina bibamalenga, kubanga Katonda yagamba nti: “Sirikuleka, era sirikwabulira n'akatono”. Kyetuva twogera n'obwesige nti: “Mukama ye mubeezi wange, siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?” Mujjukire abakulembeze bammwe, abaabategeeza ekigambo kya Katonda. Mwetegereze ebyo bye baayitamu mu bulamu bwabwe, mugoberere okukkiriza kwabwe. Yesu Kristo nga bwe yali jjo, bw'ali ne leero, era bw'aliba emirembe n'emirembe. Mulemenga kuwubisibwa kuyigiriza okutali kumu, abantu kwe baleetereza. Kirungi okuba n'omutima ogunyweredde ku kisa kya Katonda, sso si ku bulombolombo bwa byakulya, obutagasa abo ababugoberera. Tulina alutaari, abo abaweereza mu weema gye batakkirizibwa kuliirako. Ssaabakabona atwala omusaayi gw'ensolo mu Kifo Ekitukuvu, n'aguwaayo olw'ebibi, naye zo ne zookerwa ebweru w'olusiisira. Ne Yesu kyeyava abonaabonera ebweru wa wankaaki w'ekibuga, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe. Kale tufulume, tugende gy'ali ebweru w'olusiisira, tuswale wamu naye. Kubanga ku nsi kuno tetulinaako kibuga kya lubeerera, wabula tunoonya ekyo ekigenda okujja. Kale tuweeyo eri Katonda ekitambiro eky'okumutenda, nga tukiyisa mu Yesu, nga twatula erinnya lye n'emimwa gyaffe. Era temwerabiranga okukola obulungi n'okuyambagana. Ebyo bye bitambiro ebisanyusa Katonda. Muwulirenga abakulembeze bammwe, era mubagonderenga, kubanga be balabirira emyoyo gyammwe, nga ba kugibuuzibwa. Mubasobozese okukikolanga n'essanyu, sso si na buwaze, kubanga ekyo tekiribaako kye kigasa mmwe. Mutusabirenga, kubanga tumanyi nti tulina omwoyo omulungi era twagala okukola obulungi mu buli kimu. Era mbeegayirira okunsabiranga ennyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli. Kale Katonda ow'emirembe, eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w'endiga omukulu, olw'endagaano eteggwaawo, eyanywezebwa n'omusaayi gwe, abawe buli kirungi kyonna, mulyoke mukolenga by'ayagala, Katonda oyo akolere mu ffe by'asiima, ng'abiyisa mu Yesu Kristo, asaanidde okuweebwa ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Abooluganda, mbasaba mugumiikirize bye mbabuuliridde, kubanga ebbaluwa eno gye mbawandiikidde, si mpanvu. Mbategeeza nti muganda waffe Timoteewo yateebwa. Era bw'alijja amangu, aliba wamu nange lwe ndibalaba mmwe. Mulamuse abakulembeze bammwe bonna, n'abantu ba Katonda bonna. Ab'omu Yitaliya babalamusizza. Katonda abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna. Amiina. Nze Yakobo omuweereza wa Katonda era owa Mukama waffe Yesu Kristo, mbalamusa mmwe ab'ebika ekkumi n'ebibiri ebisaasaanye wonna. Abooluganda, bwe mutuukibwangako ebizibu ebya buli ngeri, musanyukenga, nga mumanyi nti okukkiriza kwammwe bwe kugezebwa, kibaviiramu okugumiikiriza. Okugumiikiriza bwe kunywerera ddala mu mmwe, mufuuka bantu abatuukiriridde ddala era abatalina kibabulako. Oba nga mu mmwe waliwo abuliddwa amagezi, asabe Katonda agabira bonna n'ekisa awatali kukodowala, galimuweebwa. Kyokka asabe ng'alina okukkiriza, nga tabuusabuusa n'akatono. Abuusabuusa, afaanaanyirizibwa n'ejjengo ly'ennyanja, empewo ly'etwala n'erizza eno n'eri. Omuntu ow'engeri eyo aleme kulowooza ng'aliko ky'alifuna okuva eri Mukama, kubanga wa myoyo ebiri, buli gy'adda tanywererayo. Owooluganda atali wa kitiibwa, asaanidde asanyuke nga Katonda amugulumizza. N'omugagga naye asaanidde asanyuke nga Katonda amutoowazizza, kubanga omugagga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo. Enjuba bw'eyaka n'ebbugumu lyayo eringi, ekaza omuddo, ekimuli kyagwo ne kigwa, n'obulungi bw'endabika yaakyo ne buggwaawo. N'omugagga bw'atyo bw'alikala, ng'ali mu ebyo bye yettanira. Omuntu agumiikiriza mu kugezebwa yeesiimye, kubanga bw'alimala okuwangula, aliweebwa engule ey'obulamu, Katonda gye yasuubiza abamwagala. Omuntu bw'akemebwanga, tagambanga nti: “Katonda ye ankema.” Katonda takemebwa kibi, era ye yennyini takema muntu n'omu. Wabula buli akemebwa, asikirizibwa era asendebwasendebwa kwegomba kwe. Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto, ne kuzaala ekibi, ate ekibi ekyo bwe kimala okukula, ne kizaala okufa. Kale nno baganda bange abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga. Buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukiridde, kiva mu ggulu, ne kikka okuva eri Katonda Kitaffe eyatonda ebyakira ku ggulu, atayinza kuba na kufuukafuuka, wadde okulimbalimba. Yateesa ku bubwe, n'atuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere n'ekifo ekisooka mu bitonde bye. Baganda bange abaagalwa, mumanye kino nti buli muntu abeerenga mwangu okuwulira, kyokka alemenga kubuguutanira kwogera, era alemenga kusunguwala mangu, kubanga obusungu bw'omuntu tebukola ebyo Katonda by'ayagala. Kale mulekenga emize gyonna n'empisa embi. Mukkirize n'obuwombeefu ekigambo kya Katonda ekyasigibwa mu mmwe, ekiyinza okulokola obulamu bwammwe. Ekigambo ekyo mukikolerengako, mulemenga kwerimba, nga mukoma ku kukiwulira buwulizi. Awulira obuwulizi ekigambo n'atakikolerako, afaanaanyirizibwa n'omuntu eyeeraba mu ndabirwamu. Yeeraba n'agenda, ate amangwago ne yeerabira bw'afaananye. Kyokka eyeetegereza amateeka amatuufu agatufuula ab'eddembe, n'aganywererako, atali awulira obuwulizi ne yeerabira, wabula omukozi atuukiriza bye galagira, oyo anaaweebwanga omukisa mu by'akola. Buli eyeerowooza nga wa ddiini, kyokka n'atafuga lulimi lwe, oyo yeerimba bwerimbi, eddiini ye teriiko ky'egasa. Eddiini entuufu era eteriiko kamogo mu maaso ga Katonda Kitaffe, ye eno: okulabiriranga bamulekwa ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga ensi ereme kutwonoona. Baganda bange, mmwe abakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo oweekitiibwa, temusosolanga mu bantu. Omuntu ayambadde engoye ennungi, n'empeta eya zaabu, bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe, n'omwavu ayambadde enziina naye n'ayingira, ne mwaniriza ayambadde engoye ennungi, ne mumugamba nti: “Ggwe tuula wano awalungi”, ate ne mugamba omwavu nti: “Ggwe yimirira eri”, oba nti: “Tuula wansi, we nteeka ebigere byange”, muba temwefudde balamuzi abalina endowooza embi? Muwulire baganda bange abaagalwa! Abaavu mu nsi, Katonda si be yalonda okuba abagagga mu kukkiriza, n'okufuna Obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala? Naye mmwe munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza mmwe, ne babasikaasikanya okubatwala mu mbuga z'amateeka? Si be bo abavvoola erinnya eddungi lye muyitibwa? Naye bwe mutuukiriza etteeka erisingira ddala amateeka gonna, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini,” muba mukoze bulungi. Naye bwe musosola mu bantu, muba mukoze bubi, era etteeka libasingisa omusango ogw'abamenyi b'amateeka. Buli akwata amateeka gonna, kyokka n'asobya mu limu, aba n'omusango ogw'okumenya amateeka gonna, kubanga eyagamba nti: “Toyendanga”, era ye yagamba nti: “Tottanga muntu”. Kale bw'otoyenda, naye n'otta omuntu, oba mumenyi wa mateeka. N'olwekyo mwogerenga era mukolenga ng'ab'okusalirwa omusango, ng'amateeka agatufuula ab'eddembe bwe gali. Atalina kisa, alisalirwa omusango eri Katonda awatali kisa. Naye ekisa kiwonya omuntu okusingibwa omusango. Baganda bange, kigasa ki omuntu bw'agamba nti alina okukkiriza, sso nga talina bikolwa birungi? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola? Bwe wabaawo owooluganda omusajja oba omukazi atalina ky'ayambala, era atalina kyakulya kimumala buli lunaku, omu ku mmwe n'amugamba nti: “Genda mirembe, obugume era okkute,” kyokka nga tamuwadde bye yeetaaga, ekyo kigasa ki? N'okukkiriza bwe kutyo: bwe kuba kwokka, nga tekuliiko bikolwa birungi, kuba kufu. Naye oli ayinza okugamba nti: “Ggwe olina okukkiriza, nze nnina ebikolwa ebirungi.” Ndaga omuntu bw'aba n'okukkiriza, nga talina bikolwa birungi, nange nkulage okukkiriza kwange, nga nsinziira ku bikolwa byange ebirungi. Okkiriza nga Katonda ali omu? Kirungi. Naye n'emyoyo emibi gikikkiriza, era ne gikankana olw'okutya. Musirusiru ggwe, oyagala okumanya nti okukkiriza okutalina bikolwa birungi tekuliiko kye kugasa? Jjajjaffe Aburahamu, teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye, bwe yawaayo omwana we Yisaaka ku kyoto okumwokya? Olaba nti okukkiriza kwe, kwagendera wamu n'ebikolwa bye, okukkiriza ne kutuukirira olw'ebikolwa. Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, era olw'okukkiriza kwe, Katonda n'amukakasa okuba omutuukirivu, era n'amuyita mukwano gwe.” Mulaba nti omuntu asiimibwa Katonda lwa bikolwa birungi by'akola, sso si lwa kukkiriza kwokka. Ne ku Rahabu malaaya si bwe kyali? Teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye ebirungi, kubanga yayaniriza ababaka, n'abayamba okudduka ng'abayisa mu kkubo eddala? Kale nno ng'omubiri ogutaliimu mwoyo bwe guba omufu, n'okukkiriza bwe kutyo: bwe kutabaamu bikolwa birungi, kuba kufu. Baganda bange, bangi mu mmwe muleme kuba bayigiriza, kubanga mumanyi nti ffe abayigiriza tulisalirwa omusango n'obukambwe okusinga abalala. Ffenna emirundi mingi tusobya. Naye oba nga waliwo omuntu atasobya mu by'ayogera, oyo aba atuukiridde, era asobola okufuga omubiri gwe gwonna. Tuteeka ebyuma mu kamwa k'embalaasi, ziryoke zituwulire, ne tuzitwala gye twagala. N'amaato nago, newaakubadde manene, enkasi entono ennyo ye egagoba ne gagenda yonna yonna omugoba gy'aba ayagala. N'olulimi nalwo bwe lutyo: newaakubadde katundu katono ak'omubiri, naye luyinza okwenyumiririza mu bingi. Lowooza ku kibira ekinene bwe kiyinza okwokebwa akaliro akatono. N'olulimi muliro. Lujjudde obubi. Kitundu kya mubiri gwaffe, naye lwonoona omubiri gwonna. Luteekera ebitonde byonna omuliro, nga luguggya mu muliro ogutazikira. Ebika by'ensolo n'eby'ennyonyi, n'eby'ebyewalula, n'eby'ebiramu eby'omu nnyanja, bifugika, era byafugibwa dda abantu. Naye olulimi tewali muntu ayinza kulufuga. Olulimi kye kintu ekibi, ekitafugika, ekijjudde obutwa kattira. Lwe tutenderezesa Mukama era Kitaffe, era lwe tukolimiza abantu, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Mu kamwa ke kamu, mwe muva okutendereza era n'okukolima. Baganda bange, ekyo tekigwanira kuba bwe kityo. Ensulo y'amazzi emu eyinza okuvaamu amazzi agawooma n'agakaawa? Baganda bange, omutiini guyinza okubala emizayiti, oba omuzabbibu okubala emitiini? Era bwe kityo n'amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi. Mu mmwe mulimu alina amagezi n'okutegeera? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi, mu bikolwa bye ebirungi by'akola n'obwetoowaze era n'amagezi. Naye mu mitima gyammwe bwe muba n'obuggya obw'akabi era n'okwefaako mwekka, mulemenga kwewaana n'okulimba nga muwakanya amazima. Amagezi ag'engeri eyo tegava mu ggulu, wabula ga ku nsi, ga bantu buntu, era ga Sitaani. Awaba obuggya n'abantu okwefaako bokka, wabaawo kutabuka era n'ebikolwa ebibi ebya buli ngeri. Naye amagezi agava mu ggulu, okusookera ddala malongoofu, ate ga mirembe, mawombeefu, gawuliriza ensonga, gajjudde ekisa era n'ebikolwa ebirungi; meesimbu, tegaliimu bukuusa. Obwenkanya kye kibala ekiva mu nsigo abaleesi b'emirembe gye basiga, nga bakolerera emirembe. Entalo n'ennyombo mu mmwe ziva ku ki? Teziva ku kwegomba kwammwe okulwanira mu mibiri gyammwe? Mwagala ebintu naye nga temubirina. Mutta abantu, era mwegomba ebintu, sso nga temusobola kubifuna. Muyomba, era ne mulwana. Bye mwetaaga temubifuna, kubanga temubisaba Katonda. Bwe musaba temufuna kubanga musaba na mutima mubi: musaba bya kwesanyusa bwesanyusa. Mmwe abantu abatali beesigwa, temumanyi nti okukwana ensi buba bulabe eri Katonda? Buli ayagala okuba mukwano gw'ensi, yeefuula mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti ekyawandiikibwa nti: “Katonda abubira nnyo omwoyo gwe yateeka mu ffe,” tekirina kye kitegeeza? Naye ekisa Katonda ky'akwatirwa abantu, kye kisinga amaanyi. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Katonda alwanyisa abeekulumbaza, kyokka abeetoowaza abakwatirwa ekisa.” Kale mube bawulize eri Katonda. Mulwanyise Sitaani, Sitaani anaabadduka. Musemberere Katonda, naye anaabasemberera. Munaabe engalo mmwe aboonoonyi, mutukuze emitima mmwe abakuusa. Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe amaziga, okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essanyu lyammwe lifuuke okunakuwala. Mwetoowaze mu maaso ga Mukama, ye alibagulumiza. Baganda bange, temwogeraganangako bubi. Ayogera obubi ku muntu munne, oba amusalira omusango, aba ayogedde bubi ku Mateeka, era ng'agasalidde omusango. Bw'osalira Amateeka omusango, oba tokwata Mateeka ago, wabula oba ogasalira musango. Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, era ye ayinza okulokola era n'okuzikiriza. Naye ggwe asalira munno omusango, ggwe ani? Kati nno mmwe abagamba nti: “Olwaleero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tumaleyo omwaka gumu nga tusuubula, tufune amagoba”, naye nga temumanyi biribaawo jjo, mumanyi wadde obulamu bwammwe nga bwe buli? Muli ng'olufu olulabika akaseera akatono ne luggwaawo. Mwandigambye nti: “Mukama bw'anaayagala, tunaaba balamu, era tunaakola kino oba kiri.” Naye kaakano mwekulumbaza, ne mwenyumiriza. Okwenyumiriza okw'engeri eyo kwonna kubi. N'olwekyo amanya ekirungi kye yandikoze n'atakikola, aba akoze kibi. Kaakano ate mmwe abagagga, mukaabe era mulire olw'obuyinike obujja okubajjira. Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. Zaabu wammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge obwo bwe bulibalumiriza, ne bulya emibiri gyammwe, ng'omuliro bwe gulya. Mukuŋŋaanyizza obugagga, ng'enkomerero y'ensi eri kumpi okutuuka. Empeera y'abakozi abaakola mu nnimiro zammwe, gye mwalyazaamaanya, yiino ereekaana, era omulanga gw'abo abaakola, gutuuse mu matu ga Mukama Omuyinzawaabyonna. Mwesanyusizza ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu. Mugejjedde olunaku olw'okuttibwa. Mwasala omusango okusinga oyo atagulina, ne mumutta nga tabalwanyisa. Kale nno baganda bange, mugumiikirizenga okutuusa Mukama lw'alijja. N'omulimi bw'atyo bw'akola: alindirira ennimiro ye okumubalira ebibala eby'omugaso, ng'agumiikiriza okutuusa lw'alifuna enkuba esooka era n'eyo ejja oluvannyuma. Nammwe mugumiikirizenga, mugume emitima, kubanga Mukama ali kumpi okujja. Baganda bange, temwemulugunyizagananga, muleme okusalirwa omusango. Omulamuzi ali awo kumpi. Baganda bange, mulabire ku balanzi abaayogeranga mu linnya lya Mukama, abaabonaabona, ne bagumiikiriza. Abo abaagumiikiriza, tubayita ba mukisa. Mwawulira Yobu bwe yagumiikiriza, era mumanyi Mukama kye yamukolera oluvannyuma, kubanga Mukama wa kisa era musaasizi. Naye baganda bange, okusingira ddala, temulayiranga newaakubadde eggulu oba ensi, wadde ekintu ekirala kyonna, naye mugambenga nti: “Weewaawo”, nga mutegeeza nti weewaawo; oba nti “Nedda”, nga mutegeeza nti nedda, muleme kuzza musango. Waliwo mu mmwe ali mu buyinike? Kale yeegayirire Katonda. Waliwo asanyuka? Kale ayimbe eby'okutendereza Katonda. Mu mmwe waliwo alwadde? Kale ayite abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, bamusabire nga bwe bamusiiga n'omuzigo mu linnya lya Mukama. Okusaba okwo okujjudde okukkiriza, kuliwonya omulwadde oyo, Mukama n'amussuusa; era oba nga yakola ebibi, birimusonyiyibwa. Kale nno mwatuliraganenga ebibi byammwe era musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omutuukirivu kwa maanyi era kukola. Eliya yali muntu nga ffe. Yasaba nnyo Katonda, enkuba ereme kutonnya ku nsi, era n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga. N'asaba nate, eggulu ne litonnyesa enkuba, ettaka ne lyeza ebibala. Baganda bange, omu ku mmwe bw'awabanga n'ava ku mazima, omulala n'amukomyawo, amanye nti oyo akomyawo omwonoonyi n'amuggya gy'awabidde, aliwonya omwoyo gwe okufa, era alisonyiyisa ebibi bingi. Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira mmwe abalondemu ba Katonda, abali kati mu Ponto, Galatiya, Kapadookiya, Asiya ne mu Bitiniya, gye mwasaasaanira. Okuva edda Katonda Kitaffe yabalonda mmwe, Mwoyo Mutuukirivu abatukuze, muwulire Yesu Kristo, era mumansibweko omusaayi gwe. Katonda ayongere okubakwatirwa mmwe ekisa, era n'okubawa emirembe. Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo yeebazibwe. Olw'okusaasira kwe okungi, yatuzaala omulundi ogwokubiri, bwe yazuukiza Yesu Kristo. Bw'atyo n'atuwa essuubi eddamu, ery'okufuna ebirungi ebitaggwaawo, Katonda by'abaterekedde mmwe mu ggulu, gye bitayinza kwonoonekera wadde okufuma. Olw'okukkiriza kwammwe, Katonda abakuuma n'obuyinza bwe, era alibalokola ku lunaku olw'enkomerero, lwe yategeka okulokolerako. Ekyo kibasanyusenga, newaakubadde muteekwa okunakuwala okumala akaseera, nga mugezebwa mu bizibu ebya buli ngeri, okugezebwa okwo kulyoke kulage nti okukkiriza kwammwe kwa mazima. Ne zaabu aggwaawo, naye agezebwa mu muliro. N'okukkiriza kwammwe okw'omuwendo okusinga zaabu, kuteekwa okugezebwa, kulyoke kusaanire ettendo, n'ekitiibwa, n'okugulumizibwa, ku lunaku Yesu Kristo lw'alirabikirako. Yesu oyo mumwagala, newaakubadde temumulabangako. Mumukkiriza, newaakubadde temumulaba kaakano, ne mujjula essanyu ery'ekitalo era eritalojjeka, ne mufuna kye mwagenderera mu kukkiriza, kwe kulokoka kw'obulamu bwammwe. Eby'okulokoka okwo, abalanzi abaalanga ekisa ekyo Katonda kye yali agenda okubakwatirwa mmwe, baabirowoozangako nnyo, ne babyekenneenya. Baagezaako okumanya ebiseera ebyo Mwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalanga, we birituukira, era n'engeri gye birituukamu, bwe yalanga nga Kristo bw'alibonyaabonyezebwa, era n'ekitiibwa ekiriddirira. Katonda yabalaga nti ebyo tebaabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. By'ebyo kaakano bye mubuuliddwa abo ababategeeza Amawulire Amalungi ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, eyatumibwa okuva mu ggulu. Era by'ebyo bamalayika bye beegomba okulaba. Kale mubenga beetegefu era mwefugenga. Essuubi lyammwe lyonna muliteekenga mu kisa ekiribakwatirwa, Kristo bw'alirabika. Mube baana bawulize. Obulamu bwammwe temubutambulizanga mu kwegomba kwe mwalina nga mukyali mu butamanya, naye mubenga batukuvu mu mpisa zammwe zonna, nga Katonda eyabayita bw'ali omutuukirivu. Kyawandiikibwa nti: “Mubenga batuukirivu, kubanga nze ndi omutuukirivu.” Oba nga Katonda mumuyita Kitammwe, ate ng'asala omusango awatali kusaliriza, ng'asinziira ku ebyo buli muntu by'akola, kale mumussengamu ekitiibwa ekiseera kyonna eky'obulamu bwammwe. Mumanyi nga ffeeza oba zaabu ebiggwaawo, si bye byabanunula mu mpisa zammwe ezitaliimu, ze mwafuna ku bajjajjammwe. Mwanunulibwa musaayi ogw'omuwendo ennyo, omusaayi gwa Kristo, ali ng'omwana gw'endiga ogutaliiko kamogo wadde ebbala. Kristo oyo yali yalonderwa dda kino nga n'ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita, n'alabibwa ku lwammwe. Mu ye mwe muyita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza n'amuwa ekitiibwa, okukkiriza kwammwe n'okusuubira kwammwe ne kulyoka kunywerera ku Katonda. Kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe nga mukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala ng'abooluganda, mweyongere okwagalana n'omutima ogutaliimu bukuusa. Mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. Ekyo ekiggwaawo si kye kyabazaala, wabula mwazaalibwa ekyo ekitaggwaawo: kye kigambo kya Katonda ekiwa abantu obulamu era ekyolubeerera. Ng'ekyawandikibwa bwe kigamba, “Abantu bonna bali ng'omuddo, n'ekitiibwa kyabwe kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa. Naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe gyonna.” Era ekigambo ekyo, ge Mawulire Amalungi agaabategeezebwa. Kale mulekenga ettima lyonna, n'obulimba bwonna, n'obukuusa, n'obuggya, n'okwogera obubi kwonna. Ng'abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata amalungi agagasa omwoyo, mulyoke muganywe mukule era mulokolebwe. Ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Mwalega ku bulungi bwa Mukama.” Mujje gy'ali. Ye lye jjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery'omugaso ennyo. Mujje gy'ali ng'amayinja amalamu, muzimbe ennyumba ey'omwoyo. Mu yo, mube bakabona abatukuvu, abaweereza ebitambiro eby'omwoyo, ebisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Nalonda ejjinja ery'omuwendo, kati lye nteeka mu Siyooni, libe ekkulu ery'entabiro. Era amukkiriza taliswazibwa” Ejjinja lino lya muwendo nnyo eri mmwe abakkiriza, naye eri abo abatakkiriza: “Lye jjinja abazimbi lye baagaana, eryafuuka ekkulu ery'entabiro.” Era nti: “Lye jjinja abantu kwe beekoona; lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala, kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda. Bwe batyo bwe baateekerwateekerwa. Naye mmwe muli lulyo lulondobe, bakabona ba Kabaka, ggwanga ttukuvu, bantu ba Katonda bennyini, abaalondebwamu mulyoke mulangirire ebirungi bya Katonda eyabayita okuva mu kizikiza, okuyingira mu kitangaala kye ekyewuunyizibwa. 2:14; Yis 9:2 Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda. Edda mwali temusaasirwa Katonda, kyokka kaakano abasaasidde. Abaagalwa, muli bagenyi abayita obuyisi mu nsi muno. Mbeegayirira mwewale ebyo omubiri bye gwegomba, ebirwanyisa omwoyo. Mukuumenga empisa zammwe ennungi, olwo abantu ab'ensi be mulimu, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, bagulumize Katonda ku lunaku lw'alijjirako. Ku bwa Mukama, muwulire buli kiragiro eky'abo abalina obuyinza, oba kabaka alina obuyinza obw'oku ntikko, oba abafuzi abalala b'atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n'okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi. Katonda ayagala mukole ebikolwa ebirungi, musirise abantu abasiru era abatalina kye bamanyi. Mube ba ddembe, naye eddembe eryo muleme kulyesigamako okuyisa obubi, wabula mulikozese ng'abaweereza ba Katonda. Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu abafuzi ekitiibwa. Abakozi muwulirenga bakama bammwe, mubassengamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi era abakwatampola, naye n'abo abakambwe. Kya mukisa omuntu bw'abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n'agumiikiriza ng'alowooza ku Katonda. Ttendo ki lye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonerezebwa olw'okukola ebibi? Naye bwe mugumiikiriza mu kubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, ekyo Katonda akisiima. Ekyo kye mwayitirwa, kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mumugoberere. Ye takolanga kibi, tayogeranga bya bukuusa. Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda asala omusango nga tasaliriza. Ye yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe ku musaalaba, tulyoke tufe eri ekibi, tube balamu mu butuukirivu. Ebiwundu bye, bye byabawonya. Mwali muwabye ng'endiga, naye kaakano mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe. Bwe mutyo nammwe abakazi abafumbo, muwulirenga babbammwe, abamu ku bo bwe baba nga tebakkiriza kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw'empisa zammwe ennungi, nga temulina na kye mubagambye, kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennongoofu era ezibassisaamu ekitiibwa. Okweyonja kwammwe kulemenga kuba mu byakungulu: mu misono gy'enviiri, n'egy'amajolobera aga zaabu, n'egy'ebyambalo, naye kube kwa mu mutima munda, okweyonja okutayonooneka, okw'omwoyo omuwombeefu era omuteefu. Okwo kwe kw'omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda, kubanga n'abakazi ab'edda abatukuvu, abaasuubiranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga, era nga bawulize eri babbaabwe. Saara bw'atyo bwe yali. Yawuliranga Aburahamu, ng'amuyita mukama we. Oba mwagala okuba bawala be, mube ba mpisa nnungi, nga tewali kibatiisa. Nammwe abasajja abafumbo, mubenga ne bakazi bammwe mu bulamu bwammwe obw'obufumbo, nga mumanyi nti bo mu kikula kyabwe banafu. Mubassengamu ekitiibwa, kubanga nabo Katonda alibakwatirwa wamu nammwe ekisa ekiwa obulamu. Olwo essaala zammwe teziibengako kiziziyiza. Eky'enkomerero, mwenna mubenga n'emmeeme emu, buli omu alumirwenga munne, mwagalanenga ng'abooluganda, mubenga ba kisa era beetoowaze. Oyo akoze ekibalumya, mmwe temumukolanga kibi. Abavumye, mmwe temumuvumanga, wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke mufune omukisa. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ayagala okufuna obulamu n'okubeera mu ddembe, aziyize olulimi lwe okwogera ekibi, n'emimwa gye okwogera eby'obukuusa. Era yeewalenga ebibi, akolenga ebirungi. Anoonyenga emirembe, era agigobererenga, kubanga abakola ebituufu, Mukama abatunuuliza kisa, era awulira bye basaba. Kyokka abakola ebibi abatunuuliza bukambwe.” Bwe mwefubirira okukola ebituufu, ani anaabakola akabi? Naye ne bwe mubonyaabonyezebwa olw'okukola ebituufu, mulina omukisa. Temubangako be mutya, era temweraliikiriranga. Mukama wammwe Kristo mumussengamu ekitiibwa mu mitima gyammwe, era mubenga beetegefu bulijjo okuddamu buli muntu ababuuza okunnyonnyola essuubi lye mulina, wabula nga muddamu n'obuwombeefu n'eggonjebwa. Mubenga n'omutima omulungi, abo ababavuma era ababoogerako obubi olw'empisa zammwe ennungi ez'abagoberezi ba Kristo, balyoke baswale. Kirungi okubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, okusinga okubonyaabonyezebwa olw'okukola ebibi. Ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi byaffe, n'atufiirira omulundi gumu n'amala. Ye omutuukirivu yafiirira ffe aboonoonyi, alyoke atuzze eri Katonda. Mu mubiri yattibwa, n'addizibwa obulamu mu mwoyo. Era mu mwoyo, mwe yagendera okuyigiriza emyoyo egiri mu kkomera. Egyo gye myoyo egy'abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng'akyabagumiikirizza, mu kiseera Noowa kye yazimbiramu eryato. Mu lyato eryo abantu abatono, bonna awamu munaana, mwe baawonyezebwa amazzi. Amazzi ago gaali kabonero k'okubatizibwa, okubalokola mmwe kaakano. Okubatizibwa tekuba kunaazaako kko lya mubiri, wabula kuba kusaba Katonda atuwe omutima omulongoofu olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo, eyalinnya mu ggulu, era aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, ng'afuga bamalayika n'ab'obuyinza n'ab'amaanyi ab'omu ggulu. Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mubenga bamalirivu nga ye, kubanga omuntu abonaabona mu mubiri, aba amaze okuleka ekibi, alyoke amale obulamu bwe bw'akyasigazizza ku nsi, ng'agoberera ebyo Katonda by'ayagala, sso si ebyo ebitwaliriza abantu mu bubi. Mu biseera ebyayita mwafuna obudde obumala okukola ebyo abantu ab'ensi bye baagala. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw'omwenge, ne mu kusinza ebitali Katonda, sso nga kwa muzizo. Kaakano abantu ab'ensi beewuunya bwe balaba nga temukyabeegattako mu bya ffujjo ng'eryo, ne babavuma. Baliwoza mu maaso ga Katonda, eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu. Abafu baasalirwa omusango ng'abantu abalala, nga bakyali mu bulamu obw'omubiri. Kyokka nabo baategeezebwa Amawulire Amalungi nga bamaze okufa, balyoke babe balamu mu mwoyo nga Katonda. Enkomerero ya byonna eri kumpi. N'olwekyo mubenga beegendereza era beetegefu, nga mwegayirira Katonda. N'okusingira ddala, mwagalanenga mu mazima, kubanga okwagala kusonyiyisa ebibi bingi. Mwaniriziganenga awatali kwemulugunya. Mube bawanika abalungi, Katonda be yakwasa ebirabo bye ebya buli ngeri. Buli omu ekirabo kye yafuna akikozesenga okugasa abalala. Oyo ayogera, ayogere ebigambo Katonda by'amuwa okwogera. Oyo aweereza, aweereze n'amaanyi Katonda g'amuwa, mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina. Abaagalwa, bwe mugezebwa mu muliro, temwewuunyanga ng'abatuukiddwako ekitali kya bulijjo. Wabula musanyukenga olw'okugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ekitiibwa kye bwe kirirabika, mulyoke mujjule essanyu. Bwe muvumibwa olw'okuba abagoberezi ba Kristo, muli ba mukisa, kubanga Mwoyo oweekitiibwa, Mwoyo wa Katonda, ali mu mmwe. Waleme kubaawo n'omu ku mmwe abonyaabonyezebwa nga bamulanga okuba omutemu oba omubbi, oba omukozi w'obubi, oba eyeeyingiza mu by'abalala. Wabula singa omuntu abonyaabonyezebwa nga bamulanga okuba Omukristo, takwatibwanga nsonyi. Atenderezenga Katonda olw'okuyitibwa erinnya eryo. Ekiseera kituuse omusango okusalibwa nga gutandikira ku ba mu nnyumba ya Katonda. Kale oba nga gutandikidde ku ffe, ku nkomerero guliba gutya ku abo abatakkiriza Mawulire Amalungi agava eri Katonda? Era, “Oba nga kizibu oyo akola ebituufu okulokolebwa, oyo atassaamu Katonda kitiibwa n'omwonoonyi baliba batya?” Kale nno abo ababonaabona nga Katonda bw'ayagala, bakolenga ebirungi, ng'obulamu bwabwe babukwasa Omutonzi omwesigwa. Kaakano neegayirira abo abakulembeze mu mmwe. Nange ndi mukulembeze munnaabwe, eyalabirako ddala ku kubonyaabonyezebwa kwa Kristo, era abalirwa mu abo abaligabana ku kitiibwa ekigenda okulabika. Mbeegayirira, mulunde eggana lya Katonda eryabakwasibwa. Mulirabirire nga Katonda bw'ayagala, si lwa buwaze, wabula nga mwagala. Mukole n'omwoyo ogwewaayo okuweereza, nga temululunkanira kufuna mpeera. Muleme kwefuula bafuzi b'abo be mwakwasibwa, naye mube kyakulabirako gye bali. Olwo omusumba omukulu bw'alirabika, muliweebwa engule eyeekitiibwa etefuma. Nammwe abavubuka muwulirenga abakulu. Mwenna muweerezaganenga nga mujjudde obwetoowaze, kubanga “Katonda tayagala beekulumbaza, kyokka abeetoowaze abakwatirwa ekisa.” Kale mwetoowazenga wansi w'omukono gwa Katonda ogw'amaanyi, ye alyoke abagulumize ekiseera nga kituuse. Mumukwasenga byonna ebibeeraliikiriza, kubanga ye abalabirira. Mwegendereze era mutunule. Omulabe wammwe Sitaani, atambulatambula ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya. Mumuziyize nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi nti ne baganda bammwe abali mu nsi yonna, babonaabona nga mmwe. Bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, Katonda nnannyini kisa, eyabayita okugabana awamu ne Kristo ku kitiibwa kye ekitaggwaawo, ye yennyini alibazza mu mbeera ennungi, alibanyweza, era alibawa amaanyi. Oyo abe n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina. Mbawandiikidde ebbaluwa eno ennyimpi nga nnyambibwako Siluvaano owooluganda, gwe mmanyi nga mwesigwa. Ngibawandiikidde nga mbakakasa nti ekyo kye kisa kya Katonda kyennyini, era nga mbakuutira okukinywereramu. Ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Babilooni, nakyo ekyalondebwa Katonda nga mmwe, kibalamusizza. N'omwana wange Mariko naye abalamusizza. Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana. Emirembe gibenga nammwe mwenna aba Kristo. Nze Simooni Peetero omuweereza era omutume wa Yesu Kristo, mbawandiikira mmwe abaafuna okukkiriza okw'omuwendo ennyo, nga ffe kwe twafuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe, era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Katonda ayongere okubakwatirwa mmwe ekisa era n'okubawa emirembe, nga mweyongera okumumanya era n'okumanya Yesu Mukama waffe. Mukama waffe oyo, mu buyinza bwe nga Katonda, yatuwa byonna bye twetaaga mu bulamu ne mu kumuweereza, nga tumanyi oyo eyatuyita okugabana ku kitiibwa kye ne ku bulungi bwe. Mu byo mwe yatuweera ebirabo ebinene era eby'omuwendo ennyo bye yatusuubiza, olw'ebirabo ebyo, muwone okuzikirira okuli mu nsi, okuleetebwa okwegomba okubi, mulyoke mugabane ku bwakatonda bwe. Kale musseeyo nnyo omwoyo, ku kukkiriza kwammwe mwongereko ebikolwa ebirungi, ku bikolwa ebirungi mwongereko okumanya, ku kumanya mwongereko okwefuga, ku kwefuga mwongereko okugumiikiriza, ku kugumiikiriza mwongereko okussaamu Katonda ekitiibwa, ku kussaamu Katonda ekitiibwa mwongereko okwagalana ng'abooluganda, ku kwagalana ng'abooluganda mwongereko okwagala abantu bonna. Ebyo bwe muba nabyo ne byeyongera obungi, biribafuula ba mugaso, era abakola ebikolwa ebirungi mu kumanya Mukama waffe Yesu Kristo. Atalina ebyo, alaba kumpi, era muzibe awunaawuna, era aba yeerabidde ng'ebibi bye eby'edda byamusonyiyibwa. Kale abooluganda, mweyongerenga okufuba ennyo okunywerera mu kuyitibwa kwammwe, ne mu kulondebwa kwammwe. Bwe mukola bwe mutyo, tewali kiribasuula. Olwo muliyingizibwa n'ekitiibwa mu Bwakabaka obutaggwaawo, obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. N'olwekyo, ebyo njija kubibajjukizanga bulijjo, newaakubadde nga mubimanyi, era nga munyweredde mu mazima ge mwafuna. Era ndowooza nti nga nkyali mulamu, kituufu okubakubirizanga nga mbajjukiza, kubanga mmanyi nga nnaatera okweyambula omubiri guno, nga Mukama waffe Yesu bwe yantegeeza. Njija kukola kye nsobola, okubateerawo ebiribasobozesa okujjukiranga ebyo buli kaseera, nze nga mmaze okufa. Bwe twabategeeza obuyinza bwa Mukama waffe Yesu Kristo n'okujja kwe, tetwayogera ngero ezaayiiyizibwa, wabula ekitiibwa kye twakirabirako ddala n'amaaso gaffe. Twaliwo nga Katonda Kitaffe amuwa ekitiibwa n'ettendo, eddoboozi bwe lyava mu Kitiibwa Ekinene, ne limwogerako nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.” Eddoboozi eryo, ffe ffennyini twaliwulira nga liva mu ggulu, bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu. N'olwekyo tweyongedde okufuna obukakafu ku ebyo abalanzi bye baayogera. Musaanidde okubissaako omwoyo, kubanga biri ng'ettaala eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde lwe bulikya, emmunyeenye ey'oku makya n'eyaka mu mitima gyammwe. Okusookera ddala, mutegeere kino nti buli kigambo ky'abalanzi ekyawandiikibwa, tewali ayinza kukinnyonnyola ku bubwe yekka, kubanga tewali mulanzi yali alanze nga yeeyagalidde, wabula abalanzi baayogeranga ebiva eri Katonda, nga Mwoyo Mutuukirivu ye aboogeza. Nga bwe waaliwo abalanzi ab'obulimba mu bantu ba Katonda, ne mu mmwe bwe walibaawo abayigiriza ab'obulimba. Balireeta mu nkiso okuyigiriza okukyamu okuzikiriza. Era balyegaana Mukama waabwe eyabanunula, ne beereetera okuzikirizibwa amangu. Bangi baligoberera empisa zaabwe embi ez'obukaba, ne bavumaganya Ekkubo ery'amazima. Olw'omululu gwabwe, balifuna amagoba mu mmwe, nga bakozesa ebigambo eby'obulimba. Omulamuzi yamala dda okwetegeka okubasalira omusango okubasinga era oyo ow'okubazikiriza, tasumagira. Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko emagombe, n'abasibira eyo mu kizikiza, okutuusa lwe balisalirwa omusango. Era teyasaasira nsi ey'edda, wabula yaleeta omujjuzo ku nsi y'abatamussaamu kitiibwa. Noowa eyakubirizanga abantu okuyisa obulungi, Katonda gwe yawonyaawo, n'abalala musanvu. Katonda yasalira ebibuga Sodoma ne Gomora omusango, n'abizikiriza n'omuliro, n'abifuula ekyokulabirako eri abo abatalimussaamu kitiibwa. Yawonya Looti eyali akola ebituufu, era eyali asobeddwa ennyo olw'empisa ez'obukaba ez'abantu ababi. Omuntu oyo eyali akola ebituufu, ebikolwa byabwe eby'obujeemu bye yalabanga ne bye yawuliranga ng'ali mu bo, buli lunaku byamuleeteranga okunyolwa mu mwoyo gwe omulungi. Mukama amanyi okuggya mu buzibu abo abassaamu Katonda ekitiibwa, n'okukuuma ababi okutuusa ku lunaku olw'okusalirwako omusango babonerezebwe, naddala abo abagoberera okwegomba okubi okw'omubiri ne banyooma okufugibwa Katonda. Abayigiriza ab'obulimba abo tebaliiko kye batya. Beefaako bokka, tebakwatibwa nsonyi kuvuma baakitiibwa. Sso newaakubadde nga bamalayika be basinga abantu bano amaanyi n'obuyinza, tebabawawaabira mu maaso ga Mukama nga babavuma. Abantu bano bali ng'ensolo obusolo ezitalina magezi, ezizaalibwa okukwatibwa zittibwe. Bavuma ebintu bye batategeera. Nabo balizikirizibwa ng'ensolo ezo, baboneebone, nga ye mpeera y'ebibi byabwe. Essanyu lyabwe, kwe kumala olunaku lwonna mu bisanyusa emibiri gyabwe. Be bantu abakwasa ensonyi, era abaswaza, bwe beegatta mu mmwe okulya, sso nga batiguka mu masanyu gaabwe. Amaaso gaabwe gajjudde obwenzi. Tebakkuta kibi. Basendasenda abantu abatali banywevu. Emitima gyabwe gijjudde omululu. Ba kuzikirira. Baaleka ekkubo ettuufu, ne bawaba, ne bakwata ekkubo lya Balamu omwana wa Bewori, eyayagala okukola ekibi alyoke afune empeera, kyokka n'anenyezebwa olw'ekibi kye, endogoyi eteyogera, bwe yayogera ng'omuntu, n'eziyiza eddalu ly'omulanzi oyo. Abantu abo, bali ng'enzizi ezitaliimu mazzi, era ng'ebire ebitwalibwa embuyaga. Ekifo ekibakuumirwa, kya kizikiza ekikutte zzigizigi. Boogera ebigambo eby'okwekuza era ebitaliimu makulu, ne basendasenda mu kwegomba okubi okw'omubiri ne mu bukaba, abo abaakava mu bantu abali mu nsobi. Babasuubiza eddembe, sso nga bo bennyini empisa embi zibafuga buddu, kubanga omuntu aba muddu w'ekyo ekimuwangudde. Abo abadduka obugwagwa bw'ensi, olw'okumanya Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, ate ne baddamu okubwesibamu ne bubawangula, embeera yaabwe ey'oluvannyuma, eba mbi okusinga eyasooka. Abantu abo, ekyandibasingidde obulungi, bwe butamanya kkubo lya butuukirivu, okusinga lwe bamala okulimanya ne balivaamu, era ne bava ku biragiro ebitukuvu ebyabaweebwa. Ekyabatuukako kikakasa nti olugero lutuufu olugamba nti: “Embwa eddidde ebisesemye byayo.” Era nti: “Embizzi enaaziddwa, ezzeemu okwekulukuunya mu bitosi.” Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa yange eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza okuba n'endowooza eteriimu bukuusa, mulyoke mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abalanzi abatukuvu, n'ebiragiro bya Mukama era Omulokozi, ebyabaweebwa abatume bammwe. Okusookera ddala, mumanye kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abantu abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Abantu abo balibasekerera mmwe, nga bagamba nti: “Eyasuubiza nti alijja aluwa? Kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna bikyali nga bwe byali okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi!” Kino bakyeyisaako bweyisa. Bamanyi nti edda Katonda yayogera bwogezi, eggulu n'ensi ne bitondebwa, ensi n'ekolebwa ng'eggyibwa mu mazzi, era n'eteekebwa wakati waago. Amazzi ago era ge gaasaanyaawo ensi ey'edda, n'ezikirira. Ekigambo kya Katonda ekyo kyennyini, kye kibeesaawo eggulu n'ensi ebiriwo kaakano, ne kibikuuma okutuusa lwe biryokebwa omuliro ku lunaku olw'okusalirako omusango, n'okuzikirira kw'abantu abatassaamu Katonda kitiibwa. Abaagalwa, kino temukyerabiranga nti eri Mukama, olunaku olumu kye kimu n'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi kye kimu n'olunaku olumu. Mukama talwawo kutuukiriza kye yasuubiza ng'abamu bwe balowooza, kyokka abagumiikiriza mmwe, nga tayagala wabeewo azikirira, wabula bonna beenenye. Naye Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lulijja ng'omubbi. Ku olwo eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro, era ensi n'ebigikolerwako birisirikka. Oba ng'ebintu ebyo byonna bigenda kuzikirizibwa bwe bityo, mugwanidde kubeera mutya? Mu bulamu bwammwe mugwanidde kuba batukuvu era abassaamu Katonda ekitiibwa, nga mulindirira era nga mwegomba nnyo Olunaku Katonda lw'alisalirako omusango lutuuke. Ku lunaku olwo, eggulu lirikoleera omuliro ne liggya, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro. Kyokka nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira eggulu eriggya n'ensi empya, omuli obutuukirivu. Kale abaagalwa, nga bwe mulindirira ebyo, mufube, Mukama abasange nga muli mirembe mu maaso ge, nga temuliiko bbala wadde akamogo. Mumanye nti okugumiikiriza kwa Mukama waffe, gwe mukisa gwammwe ogw'okulokolebwa. Ne muganda waffe omwagalwa Pawulo bw'atyo bwe yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mu zo mulimu ebimu ebizibu okutegeera, abantu abatamanyi n'abatali banywevu, bye bakyamya, nga bwe bakola ne ku byawandiikibwa ebirala, ne kibaviiramu okuzikirira. Kale nno mmwe abaagalwa, nga ebyo bwe mubitegedde nga bukyali, mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa bukyamu bw'ababi, ne muva we munyweredde. Naye mukule nga muyambibwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, nga mweyongera okumumanya. Yennyini aweebwenga ekitiibwa, kaakano n'emirembe gyonna. Amiina. Tubabuulira ku Kigambo ow'obulamu, eyaliwo okuviira ddala olubereberye. Twawulira by'ayogera, twamulaba n'amaaso gaffe, twamutunuulira, era twamukwatako n'engalo zaffe. Obulamu obwo bwe bwalagibwa, twabulaba. Kale tubwogerako, ne tubategeeza mmwe eby'obulamu obwo obutaggwaawo, obwali awali Kitaffe, era obwatulagibwa. Kye twalaba, era kye twawulira, kye tubategeeza, nammwe mulyoke mutwegatteko mu kussa ekimu ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo. Era bino tubiwandiika, essanyu lyaffe liryoke lituukirire. Bino bye bigambo bye, bye twawulira era bye tubategeeza mmwe nti Katonda kye kitangaala, era mu ye temuli kizikiza n'akatono. Bwe tugamba nti tussa kimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba, era tuba tetukolera ku mazima. Naye bwe tutambulira mu kitangaala, nga naye bw'ali mu kitangaala, tussa kimu ffenna, era omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako buli kibi. Bwe tugamba nti tetulina kibi, tuba twerimba, era amazima nga tegali mu ffe. Naye bwe twatula ebibi byaffe, Katonda omwesigwa era omutuukirivu abitusonyiwa, era atunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. Bwe tugamba nti tetukolanga kibi, Katonda tumufuula mulimba, era nga n'ekigambo kye tekiri mu ffe. Baana bange, bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye bwe wabaawo akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo omutuukirivu. Kristo oyo gwe mutango ogutuggyisaako ebibi byaffe; si byaffe byokka, naye n'eby'abantu bonna. Bwe tukwata ebiragiro bya Katonda, kwe tutegeerera nga tumumanyi. Oyo agamba nti: “Mmumanyi”, ate n'ajeemera ebiragiro bye, aba mulimba, era taliimu mazima. Naye buli atuukiriza ekigambo kya Katonda, ddala y'aba n'okwagala Katonda okutuukiridde. Ku kino kwe tumanyira nga tuli mu ye. Buli agamba nti ali mu Katonda, ateekwa okuyisanga nga Kristo bwe yayisa. Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula kye kiragiro eky'edda, kye mwafuna okuviira ddala olubereberye. Ekiragiro eky'edda ekyo, kye kigambo kye mwawulira. Naye era ekiragiro kye mbawandiikira kiggya, era amazima gaakyo galabikira mu Kristo ne mu mmwe, kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo, era ekitangaala kyennyini kaakano kyaka. Oyo agamba nti ali mu kitangaala, ate n'akyawa muntu munne, akyali mu kizikiza. Oyo ayagala muntu munne, aba mu kitangaala era mu kyo teyeesittala. Kyokka akyawa muntu munne, ali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw'atambulira, nga tamanyi gy'alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso. Baana bange, mbawandiikira kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olwa Yesu. Mbawandiikira mmwe abakulu, kubanga mumanyi oyo eyabaawo okuviira ddala olubereberye. Mbawandiikira mmwe abavubuka, kubanga muwangudde Omubi. Mbawandiikidde mmwe abaana abato, kubanga mumanyi Kitaffe. Mbawandiikidde mmwe abakulu, kubanga mumanyi oyo eyabaawo okuviira ddala olubereberye. Mbawandiikidde mmwe abavubuka, kubanga muli ba maanyi, n'ekigambo kya Katonda kibalimu, era muwangudde Omubi. Temwagalanga nsi, wadde ebintu ebigirimu. Oyo ayagala ensi, tabaamu kwagala Kitaffe, kubanga buli ekiri mu nsi–okwegomba okw'omubiri, n'okwegomba okw'amaaso, n'okwegulumiza okw'obulamu buno–ebyo tebiva eri Kitaffe, naye biva mu nsi. Ensi eggwaawo n'okwegomba kwayo, naye akola Katonda by'ayagala, abeerawo emirembe n'emirembe. Baana bange, ekiseera eky'enkomerero kituuse. Era nga bwe mwawulira nti omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi. Ku kino kwe tumanyira nga ekiseera eky'enkomerero kituuse. Abantu abo baava mu ffe, naye tebaali baffe. Singa baali baffe, bandibadde basigala naffe. Naye baatuvaamu, balyoke balabikire ddala nti tewali n'omu ku bo eyali owaffe. Naye mmwe Kristo yabagabira Mwoyo Mutuukirivu, era mwenna mumanyi amazima. Mbawandiikidde, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era mumanyi nga tewali bulimba buva mu mazima. Omulimba ye ani? Si ye oyo agamba nti Yesu si ye Kristo? Oyo eyeegaana Kitaffe ne Mwana, ye mulabe wa Kristo. Buli eyeegaana Mwana, aba yeegaanye ne Kitaffe. Ayatula nti akkiriza Mwana, aba ne Kitaffe. Mmwe kye mwawulira okuva olubereberye, kibeerenga mu mmwe. Ekyo kye mwawulira okuva olubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, olwo nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe. Era Kristo yennyini kye yatusuubiza, bwe bulamu obutaggwaawo. Ebyo mbibawandiikidde olw'abo abaagala okubakyamya. Naye mmwe, Mwoyo Mutuukirivu, Kristo gwe yabagabira, ali mu mmwe. N'olwekyo temwetaaga muntu n'omu okubayigiriza kubanga Mwoyo we abayigiriza byonna era wa mazima, si wa bulimba. Kale mubeerenga mu Kristo, nga Mwoyo bwe yabayigiriza. Kaakano baana bange, mubeerenga mu ye. Bw'alirabika, tulyoke tube bagumu, tuleme kukwatibwa nsonyi mu maaso ge lw'alijja. Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, mumanye nga buli akola eby'obutuukirivu ye mwana we. Mulabe Kitaffe bwe yatwagala ne tuyitibwa abaana ba Katonda, era ddala bwe tuli. Ensi kyeva tetumanya, kubanga naye teyamumanya. Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda. Kye tuliba tekinnamanyika, kyokka tumanyi nti bw'alirabika, tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw'ali. Era buli muntu asuubira bw'atyo mu Kristo, yeetukuza nga Kristo bw'ali omutukuvu. Buli akola ekibi, aba mujeemu, kubanga ekibi bwe bujeemu. Mumanyi nga Kristo yalabika, alyoke aggyewo ebibi, era nga mu ye temuli kibi. Buli muntu abeera mu ye, takola kibi. Buli akola ekibi, oyo talabanga era tamanyanga Kristo. Baana bange, waleme kubaawo ababuzaabuza. Akola eby'obutuukirivu, mutuukirivu nga Kristo bw'ali omutuukirivu. Akola ekibi, oyo wa Sitaani, kubanga okuviira ddala olubereberye Sitaani mwonoonyi. Omwana wa Katonda kyeyava alabika azikirize ebikolwa bya Sitaani. Buli muntu eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga obulamu bwa Katonda buba buli mu ye. Tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Sitaani kwe balabikira: buli muntu atakola bya butuukirivu, wadde atayagala muntu munne, si wa Katonda. Kino kye kigambo kye mwawulira okuva olubereberye, nti tuteekwa okwagalananga. Tuteekwa obutaba nga Kayini eyali ow'Omubi, n'atemula muganda we. Era yamutemulira ki? Yamutemula, kubanga ebikolwa ebibye byali bibi, ebya muganda we nga birungi. Abooluganda, temwewuunyanga ensi bw'ebakyawanga. Ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala bantu bannaffe. Atalina kwagala aba akyali mu kufa. Buli muntu akyawa muntu munne, mutemu. Ate mumanyi nga tewali mutemu alina bulamu obutaggwaawo. Ku kino kwe tumanyira okwagala: Kristo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. Naffe tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe ku lw'abantu bannaffe. Kale omuntu alina ebyobugagga obw'oku nsi n'alaba muntu munne ng'ali mu bwetaavu, n'atamuyamba, ayinza atya okugamba nti ayagala Katonda? Baana bange, tuleme okwagalanga mu bigambo ne mu lulimi mwokka, naye tubenga n'okwagala kwennyini okulabikira mu bikolwa. Ku kino kwe tunaamanyiranga nti tuli ba mazima, n'emitima gyaffe ne gitutereera mu maaso ga Katonda, kubanga emitima gyaffe ne bwe gitulumiriza, tuba tumanyi nti Katonda mukulu okusinga emitima gyaffe, era amanyi byonna. Abaagalwa, emitima gyaffe bwe gitatulumiriza, tuba bagumu mu maaso ga Katonda, era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye, era tukola ebimusanyusa. Era kino kye kiragiro kye nti tukkirize Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga Kristo bwe yatulagira. Bonna abakwata ebiragiro bya Katonda babeera mu Katonda, ne Katonda n'abeera mu bo. Era kwe tumanyira ng'ali mu ffe, ye Mwoyo gwe yatuwa. Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mugezenga emyoyo, mulabe oba nga giva eri Katonda, kubanga abalanzi ab'obulimba bangi basaasaanye ne bajja mu nsi. Omwoyo ogwa Katonda mugumanyiranga ku kino: ayatula nti Yesu Kristo yajja ng'alina omubiri, oyo alina omwoyo oguvudde eri Katonda. Buli muntu agaana okwatula ekyo ku Yesu Kristo, talina mwoyo guvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo. Mwawulira nti gujja, era kaakano gwatuuka dda mu nsi. Baana bange, mmwe muli ba Katonda era mwawangula abalanzi ab'obulimba, kubanga oyo ali mu mmwe asinga nnyo oyo ali mu nsi. Bo ba nsi, kyebava boogera eby'ensi, ensi n'ebawuliriza. Ffe tuli ba Katonda. Amanyi Katonda, atuwuliriza. Atali wa Katonda, tatuwuliriza. Ku ekyo kwe tumanyira omwoyo ogw'amazima n'omwoyo ogw'obukyamu. Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli muntu alina okwagala, yazaalibwa Katonda, era amanyi Katonda. Atalina kwagala, aba tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwe kwagala. Ku kino Katonda kwe yalagira bw'atwagala: yatuma mu nsi Omwana we omu yekka, tulyoke tube balamu ku bw'oyo. Mu kino mwe muli okwagala: si kugamba nti ffe twayagala Katonda, wabula ye yatwagala, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe. Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala, naffe tuteekwa okwagalana. Tewali yali alabye Katonda; kyokka bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, era okwagala kwe kuba kutuukiridde mu ffe. Tumanyi nga tuli mu Katonda, era nga naye ali mu ffe, kubanga yatuwa ku Mwoyo we. Era ffe twalaba era tutegeeza abalala nti Kitaffe yatuwa Omwana we okuba Omulokozi w'ensi. Buli ayatula nti Yesu ye Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye, naye abeera mu Katonda. Era ffe tumanyi era tukkiriza okwagala Katonda kw'atwagalamu. Katonda kwe kwagala, era oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. Mu kino okwagala kuba kutuukiridde mu ffe, tulyoke tube bagumu ku lunaku olw'okusalirwako omusango, kubanga ye nga bw'ali, naffe bwe tuli mu nsi muno. Mu kwagala temuli kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya. Okutya kweraliikirira ekibonerezo, era oyo atya aba tannatuukirira mu kwagala. Ffe tulina okwagala kubanga Katonda ye yasooka okutwagala. Omuntu bw'agamba nti: “Njagala Katonda”, ate n'akyawa muntu munne, aba mulimba, kubanga atayagala muntu munne gwe yali alabyeko, tayinza kwagala Katonda gw'atalabangako. Era tulina ekiragiro kino kye yatuwa nti: ayagala Katonda, ayagalenga ne muntu munne. Buli akkiriza nga Yesu ye Kristo, aba mwana wa Katonda, era buli ayagala omuzadde, ayagala n'omwana w'omuzadde oyo. Bwe twagala Katonda, era ne tukwata ebiragiro bye, kwe tumanyira nti twagala abaana ba Katonda. Okwagala Katonda, kwe kukwata ebiragiro bye; ate ng'ebiragiro bye si bizito, kubanga buli eyazaalibwa Katonda, awangula ensi, era amaanyi agawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe. Awangula ensi ye ani, wabula oyo akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda? Yesu Kristo oyo ye yajjira mu mazzi ne mu musaayi. Si mu mazzi gokka, wabula mu mazzi ne mu musaayi. Era Mwoyo Mutuukirivu ye akakasa nti kino kya mazima, kubanga Mwoyo Mutuukirivu ge mazima. Waliwo ebikakasa bisatu: Mwoyo Mutuukirivu, amazzi, n'omusaayi, era ebisatu ebyo bissa kimu. Oba nga tukkiriza abantu bye bakakasa, ebyo Katonda by'akakasa bye bisinga obukulu. Katonda by'akakasa bifa ku Mwana we. Akkiriza Omwana wa Katonda, aba n'okukakasa okwo. Atakkiriza, afuula Katonda okuba omulimba, kubanga aba takkiriza ebyo Katonda by'akakasa ku Mwana we. Katonda ky'akakasa kye kino nti yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we. Buli alina Omwana wa Katonda, alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda, talina bulamu. Mmwe abakkiriza Omwana wa Katonda, ebyo mbibawandiikidde, mulyoke mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo. Tulina obwesige mu ye, kubanga bwe tubaako kye tumusaba, ne tukimusaba nga tukkaanya n'ebyo Ye by'ayagala, atuwulira. Era bwe tumanya nti bwe tumusaba atuwulira, tumanyi nga ebyo bye tumusaba tubifuna. Omuntu bw'alabanga muntu munne ng'akola ekibi ekitaamuleetere kufa, asabenga Katonda awe munne oyo obulamu. Kino kikwata ku abo abakola ekibi ekitaleeta kufa. Waliwo ekibi ekireeta okufa. Ekyo si kye njogerako bwe ŋŋamba okusabanga Katonda. Buli kitali kya butuukirivu, kibi. Naye waliwo ekibi ekitaleeta kufa. Tumanyi nga buli muntu eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga Omwana wa Katonda amukuuma, Omubi n'atamukola kabi. Tumanyi nga tuli ba Katonda, era ng'ensi yonna eri mu buyinza bwa Mubi. Era tumanyi ng'Omwana wa Katonda yajja n'atuwa okutegeera, tumanye Katonda ow'amazima; era tuli mu Oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, era bwe bulamu obutaggwaawo. Baana bange, mwewalenga okusinza ebitali Katonda. Nze Omukadde, mpandiikira Omukyala Omulonde wa Katonda, era mpandiikira n'abaana be, be njagala mu mazima; sso si nze nzekka, naye n'abo bonna abamanyi amazima babaagala, olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe oyo, batukwatirwenga ekisa, batusaasirenga, era batuwenga emirembe mu mazima ne mu kwagala. Nasanyuka nnyo kubanga nasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga Kitaffe bwe yatulagira. Era kaakano, nkwegayirira, Nnyabo, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya, wabula ekyo kye twalina okuviira ddala olubereberye, nti twagalanenga. Okwagala kitegeeza kugobereranga biragiro bya Katonda. Ekiragiro ekyo, nga bwe mwakiwulira okuviira ddala olubereberye, kye kino nti mwagalanenga bulijjo. Abalimbalimba bangi abaasaasaana mu nsi. B'ebo abatakkiriza nti Yesu Kristo yajja ng'alina omubiri. Omuntu ali ng'abo, mulimba, era mulabe wa Kristo. Mwekuume, muleme kufiirwa kye mwateganira, wabula mufune empeera yammwe enzijuvu. Buli muntu asukka ku ebyo Kristo by'ayigiriza, era atabinywererako, talina Katonda. Oyo abinywererako, alina Kitaffe ne Mwana. Bwe wabangawo ajja gye muli nga tazze n'ebyo Kristo by'ayigiriza, temumwanirizanga mu maka gammwe, era temumulamusanga. Amulamusa, assa kimu naye mu bikolwa bye ebibi. Newaakubadde nnina bingi eby'okubawandiikira, naye ssaagala kubiteeka ku lupapula ne bwino, wabula nsuubira okujja gye muli, twogeranye akamwa n'akamwa, essanyu lyaffe liryoke lituukirire. Abaana ba muganda wo, omulonde wa Katonda, bakulamusizza. Nze Omukadde mpandiikira Gaayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima. Omwagalwa, nsaba Katonda obeere bulungi mu byonna, era obeere mulamu mu mubiri, nga bw'oli mu mwoyo. Nasanyuka nnyo abooluganda bwe bajja ne boogera nti onyweredde ku mazima, era nti g'otambuliramu. Tewali kinsanyusa ng'okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima. Omwagalwa, oli mwesigwa mu byonna by'okolera abooluganda, ne bwe baba nga bagenyi bugenyi. Abo baategeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ku kwagala kwo. Onooba okoze bulungi okubakulembera ne batambula nga basaanidde Katonda, kubanga beesowolayo olwa Kristo, ne bagaana okuweebwa ekintu n'ekimu okuva mu batakkiriza. N'olwekyo tusaanidde okuyamba abantu ng'abo, tulyoke twetabe mu mulimu ogw'okubunyisa amazima. Nawandiikira ekibiina ky'abakkiriza Kristo, naye Diyotireefe olw'okululunkanira okuba omukulu waabwe, takkiriza bye ŋŋamba. Bwe ndijja kyendiva mmuvunaana olw'ebikolwa bye by'akola, ng'atwogerako ebigambo ebibi. Era ebyo tebimumala, wabula abooluganda ye yennyini tabaaniriza; ate n'abo abaagala okubaaniriza abaziyiza, n'abagoba ne mu kibiina ky'abakkiriza Kristo. Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula gobereranga ekirungi. Akola ekirungi, oyo aba wa Katonda. Akola ekibi, oyo aba talabanga Katonda. Demetiriyo bonna bamwogerako bulungi, era kye boogera kya mazima. Era naffe tumwogerako bulungi, ate omanyi nga ffe kye twogera kiba kya mazima. Mbadde na bingi eby'okukuwandiikira, naye ssaagala kukuwandiikira na kafumu na bwino. Nsuubira okukulaba amangu, olwo tulyogeranya akamwa n'akamwa. Emirembe gibe naawe. Mikwano gyo bakulamusizza. Lamusa buli omu ku mikwano gyaffe. Nze Yuda omuweereza wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, mpandiikira mmwe abaayitibwa, ne mwagalibwa Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo. Okusaasira, n'emirembe era n'okwagala byeyongere mu mmwe. Abaagalwa, bwe nali nga nfuba okubawandiikira ku kulokolebwa kwaffe ffenna, ne ndaba nga nteekwa okubawandiikira, nga mbakubiriza okulwanirira okukkiriza, abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu ne biggwa. Kubanga abantu abamu abatatya Katonda bebbirira ne beetabika mu mmwe. Be bo abaayogerwako edda nga bwe balisalirwa omusango okubasinga. Be bantu abafuula ekisa kya Katonda ekyekwaso eky'okukolerako eby'obwenzi, ne beegaana Omufuzi waffe omu yekka, era Mukama waffe Yesu Kristo. Newaakubadde bino byonna mwabimanya dda, njagala okubajjukiza nti Mukama bwe yamala okuggya abantu be mu Misiri, oluvannyuma yazikiriza abo abatakkiriza. Ne bamalayika abaasukka obukulu bwabwe we bukoma, ne bava mu kifo kyabwe, mujjukire nti Katonda abakuumira mu kizikiza nga basibiddwa enjegere, ze batalivaamu ennaku zonna, okutuusa olunaku olukulu olw'okusalirako omusango lwe lulituuka. Era mu ngeri ye emu, ab'omu Sodoma ne Gomora, n'ebibuga ebirala ebyali biriraanyeewo, abaayenda, ne bakola ebitali bya buwangwa, baaweebwa ekibonerezo eky'omuliro ogutazikira, ne baba ekyokulabirako. Bano nabo bwe bali. Balimbwalimbwa ebirooto byabwe, ne bamalamu emibiri gyabwe ekitiibwa, ne banyooma obuyinza bwa Katonda, era ne bavuma abeekitiibwa ab'omu ggulu. Sso nga Mikayeli ssaabamalayika, bwe yali ayomba ne Sitaani, nga bakaayanira omubiri gwa Musa, teyaguma kumugamba bigambo bivuma ng'amusalira omusango, wabula yagamba nti: “Katonda akunenye!” Kyokka abo, byonna bye batategeera babivuma; ate ebyo bye bategeera mu buwangwa bwabwe ng'ensolo ezitalina magezi, bye bibazikiriza. Zibasanze, kubanga ekkubo bakutte lya Kayini. Olw'okwagala ebyokufuna, bagudde mu nsobi ya Balamu. Bajeemye nga Koora, ne bazikirira nga ye. Embaga zammwe mwe mulagira okwagalana, baziziyiza okugenda obulungi. Bo bajjirira kulya, nga tebakwatibwa na nsonyi okwefaako bokka. Bali ng'ebire ebitwalibwa embuyaga, ne bitavaamu nkuba. Bali ng'emiti egitaliiko bibala mu makungula, egifiiridde ddala, ne gisimbulwa n'emirandira. Bali ng'amayengo g'ennyanja esiikuuse: babimba ejjovu ly'ebikolwa byabwe eby'ensonyi. Bali ng'emmunyeenye ezenjeera, bategekeddwa okubeeranga mu kizikiza emirembe n'emirembe. Be bo Enoka ow'omusanvu okuva ku Adamu, be yayogerako bwe yalanga nti: “Laba, Mukama ajja n'enkumi n'enkumi z'abatukuvu be, okusalira abantu bonna omusango gusinge bonna abatatya Katonda, olwa byonna bye baakolera mu butamutya, n'olw'ebigambo byonna ebibi, aboonoonyi abatamutya bye baamwogerako.” Be bo abatolotooma, abeemulugunya, era abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Akamwa kaabwe koogera ebigambo eby'okwekulumbaza, era bawaanawaana abalala, olw'okwegasa bennyini. Naye mmwe abaagalwa, mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo. Baabagamba mmwe nti: “Mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abasekerera abakkiriza, era abagoberera okwegomba kwabwe okubi, nga tebassaamu Katonda kitiibwa.” Be bo abaleeta okwawukana, abeemalidde ku by'ensi, era abatalina Mwoyo Mutuukirivu. Naye mmwe abaagalwa, okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo kwe kuba kubeera omusingi kwe muzimbira obulamu bwammwe, nga musinza Katonda mu Mwoyo Mutuukirivu. Munywerere ku kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo okubatuusa mu bulamu obutaggwaawo. Abo ababuusabuusa mubakwatirwe ekisa. Abalala mubawonye, nga mubasika mu muliro; n'abalala mubeegendereze mu kubakwatirwa ekisa, nga mukyawa n'ekyambalo ekyonooneddwa empisa embi. Oyo ayinza okubakuuma ne mutagwa, n'okubatuusa w'ali mu kitiibwa kye nga temuliiko bbala, era nga musanyuka, oyo Katonda omu yekka, atulokola ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe, abe n'ekitiibwa, n'obukulu, n'obufuzi, n'obuyinza okuva edda n'edda, ne kaakano, n'emirembe gyonna. Amiina. Bino bye bigambo bya Yesu Kristo, Katonda bye yamuwa amanyise abaweereza be, ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yatuma malayika we, n'abitegeeza omuweereza we Yowanne, eyayogera byonna bye yalaba. Yayogera ebigambo bya Katonda, n'ebya Yesu Kristo, ebibikakasa. Wa mukisa asoma ebigambo bino eby'obulanzi, era ba mukisa abawulira ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, ne babikwata, kubanga ekiseera kiri kumpi byonna ebiwandiikiddwamu lwe binaatuukirizibwa. Yowanne awandiikira ebibiina omusanvu eby'abakkiriza Kristo ebiri mu Asiya. Ekisa kya Katonda n'emirembe bibeerenga nammwe, nga biva eri Katonda abaawo, era eyabaawo, era ajja okubaawo; era nga biva eri emyoyo omusanvu, egiri mu maaso g'entebe ye ey'obwakabaka; era nga biva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, eyasooka bonna okuzuukira, era afuga bakabaka ab'oku nsi. Kristo oyo atwagala era eyatuggya mu bibi byaffe bwe yatufiirira, n'atufuula obwakabaka era bakabona ba Katonda era Kitaawe aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina. Wuuyo ajjira ku bire. Abantu bonna balimulaba, era n'abo abaamufumita balimulaba. Abantu bonna ku nsi balikuba ebiwoobe ku lulwe. Ky'ekyo. Amiina. Zek 12:10; Yow 19:34,37 Nze ntandikwa era “Nze nkomerero ya byonna,” bw'atyo bw'agamba Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna, abaawo, era eyabaawo, era ajja okubaawo. Nze Yowanne, muganda wammwe, agabana awamu nammwe ku kubonaabona, ne ku Bwakabaka era ne ku kugumiikiriza, ebiri mu Yesu. Nali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'okuba nga nali ntegeezezza abantu ekigambo kya Katonda, era nga mbategeezezza ebifa ku Yesu. Ku lunaku lwa Mukama, Mwoyo n'anjijako. Ne mpulira emabega wange eddoboozi ery'omwanguka, ng'ery'eŋŋombe, nga ligamba nti: “By'olaba biwandiike mu kitabo, okiweereze ebibiina omusanvu eby'abakkiriza Kristo: eky'e Efeso, eky'e Simiruna, eky'e Perugamo, eky'e Tiyatira, eky'e Sarudi, eky'e Filadelufiya, n'eky'e Lawodiikiya.” Awo ne nkyuka okulaba ayogera nange. Bwe nakyuka, ne ndaba ebikondo by'ettaala musanvu ebya zaabu. Wakati w'ebikondo ebyo, ne ndaba afaanana ng'Omwana w'Omuntu, ng'ayambadde ekyambalo ekituukira ddala ku bigere, era nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. Omutwe gwe n'enviiri ze, byali bitukula ng'ebyoya by'endiga ebyeru ng'omuzira. Amaaso ge nga gali ng'ennimi ez'omuliro. Ebigere bye nga biri ng'ekikomo ekizigule, ekirongooseddwa mu muliro. Eddoboozi lye nga liri ng'ery'amazzi amangi agayiika. Yali akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu. Mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekyogi ku njuuyi zaakyo zombiriri. Obwenyi bwe nga buli ng'enjuba eyaka n'amaanyi gaayo gonna. Bwe namulaba, ne ngwa okumpi n'ebigere bye, nga ndi ng'afudde. Kyokka n'ankwatako n'omukono gwe ogwa ddyo, n'agamba nti: “Totya, nze w'olubereberye era ow'enkomerero, era omulamu. Nali nfudde, naye laba kati ndi mulamu emirembe n'emirembe, era nnina obuyinza ku Kufa ne ku Magombe. Kale wandiika by'olabye, ebiriwo n'ebigenda okubaawo oluvannyuma. Amakulu g'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, n'ag'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu, ge gano: emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ebibiina omusanvu eby'abakkiriza Kristo, ate ebikondo omusanvu eby'ettaala, bye bibiina omusanvu eby'abakkiriza Kristo. “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza eky'omu Efeso, muwandiikire nti: “Oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, era atambulira wakati w'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu, bino by'agamba nti: Mmanyi ebikolwa byo n'okufuba kwo, n'okugumiikiriza kwo. Mmanyi nga toyinza kugumiikiriza babi. Era abo abaali beeyita abatume, sso nga si batume, wabageza n'obalaba nga balimba. Olina obugumiikiriza, wagumira byonna ku lwange, n'ototerebuka. Kyokka nnina kye nkuvunaana: waleka okwagala kwe walina olubereberye. Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okole bye wakolanga olubereberye. Bw'oteenenye, nja kujja gy'oli, nzigyewo ekikondo kyo eky'ettaala mu kifo kyakyo. Naye kino kye kirungi ky'olina: okyawa ebikolwa by'abagoberezi ba Nikolaawo, nange bye nkyawa. “Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula ebibi, ndimuwa obuyinza okulya ku bibala by'omuti ogw'obulamu, oguli mu kifo eky'okwesiima ekya Katonda. “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Simiruna muwandiikire nti: “Ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu, bino by'agamba nti: Mmanyi okubonaabona kwo, n'obwavu bwo, kyokka oli mugagga. Mmanyi n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya, sso nga si Bayudaaya, wabula bagoberezi ba Sitaani. Totya ebyo by'ogenda okubonaabonamu. Laba, Sitaani anaatera okuteeka abamu ku mmwe mu kkomera mugezebwe, era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa ne bwe kiba kikutuusa ku kufa, nze ndikuwa engule ey'obuwanguzi. “Alina amatu, awulire ekyo Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula amaanyi ga Sitaani, okufa okwokubiri tekulimukolako kabi. “Malayika ow'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Perugamo, muwandiikire nti: “Oyo alina ekitala ekyogi ku njuuyi zaakyo zombiriri, bino by'agamba nti: Mmanyi gy'obeera, awali entebe ey'obwakabaka eya Sitaani. Kyokka onnywereddeko. Ne mu kiseera Antipa, omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa ewammwe, Sitaani gy'abeera, wasigala okyanzikiriza. “Naye nnina ebitonotono bye nkuvunaana, kubanga eyo olinayo abagoberera okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okwesittaza Abayisirayeli, balye ebiweereddwayo eri ebyo ebitali Katonda, era bakole eby'obwenzi. Bw'otyo era naawe olina abagoberera okuyigiriza kw'Abanikolaawo. Kale weenenye. Bw'oteenenye, nja kujja mangu gy'oli, nnwanyise abantu abo n'ekitala eky'omu kamwa kange. “Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula amaanyi ga Sitaani, ndimuwa ku mannu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja eryeru, eriwandiikiddwako erinnya eriggya, eritamanyiddwa muntu mulala, wabula oyo alifuna. “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Tiyatira muwandiikire nti: Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, ebigere bye nga biri ng'ekikomo ekizigule, bino by'agamba nti: Mmanyi by'okola. Mmanyi okwagala kwo, n'okugumiikiriza kwo, era mmanyi nga by'okola kaakano bingi okusinga bye wakolanga olubereberye. Naye nnina kye nkuvunaana: omukazi Yezebeeli eyeeyita omulanzi, wamuleka okukyamya abagoberezi bange, ng'abayigiriza okwenda n'okulya ebiweereddwayo eri ebyo ebitali Katonda. Namuwa ebbanga okwenenya, n'agaana okwenenya obwenzi bwe. “Kale njija kumuteeka ku ndiri abeere mu kubonaabona okungi wamu n'abo abaayenda naye, bwe bateenenye ebyo bye baakola naye. Era abagoberezi be ndibatta, ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo biryoke bitegeere nga nze wuuyo akebera ebirowoozo n'emitima. Buli omu ku mmwe ndimuwa ekimusaanidde, nga nsinziira ku bikolwa bye. “Naye mmwe abalala ab'omu Tiyatira, abatakkiriza kuyigiriza okwo era abatamanyi ebyo abamu bye bayita ebyama ebyomunda ennyo ebya Sitaani, mbagamba nti: sijja kubatikka buzito bulala, wabula ekyo kye mulina mukinyweze okutuusa lwe ndijja. Oyo awangula, n'akola bye ndagira okutuusa enkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga, “Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Sarudi muwandiikire nti: Oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n'emmunyeenye omusanvu, bino by'agamba nti: Mmanyi by'okola. Mmanyi ng'omanyiddwa nti oli mulamu, sso ng'oli mufu. Tunula, onyweze ebyo ebikyasigaddewo nga tebinnafa, kubanga mu by'okola sirabamu kituukiridde mu maaso ga Katonda wange. “Kale jjukira bye wayigirizibwa era bye wawulira, obikwate, weenenye. Bw'otootunule, ndijja ng'omubbi, era tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli. Naye mu Sarudi olinamu abamu abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe. Balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde. Bw'atyo awangula, alyambazibwa ebyambalo ebyeru, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky'obulamu, wabula ndirangirira nti oyo wange, mu maaso ga Kitange n'aga bamalayika be. “Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Filadelufiya muwandiikire nti: Oyo omutuukirivu era ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, era aggulawo ne wataba n'omu ayinza kuggalawo, aggalawo ne wataba n'omu ayinza kuggulawo, bino by'agamba nti: Mmanyi by'okola. Nakuggulirawo oluggi olutayinza kuggalwawo muntu n'omu. Mmanyi ng'olina amaanyi matono, kyokka wanywerera ku kigambo kyange n'otonneegaana. “Kale abo abagoberezi ba Sitaani, abeeyita Abayudaaya sso nga si Bayudaaya, naye nga balimba bulimbi, ndibaleeta mu maaso go, bavuuname kumpi n'ebigere byo, bategeere nti nkwagala, kubanga wakwata ekiragiro kyange ekigamba nti: ‘Gumiikiriza,’ nange ndikuwonya mu kiseera eky'okugezebwa, ekigenda okujja ku nsi yonna, okugeza abo abali ku nsi. Njija mangu. Nyweza ky'olina, waleme kubaawo akutwalako ngule yo ey'obuwanguzi. Awangula, ndimufuula empagi mu Ssinzizo lya Katonda wange, era talirivaamu. Ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n'erinnya ly'Ekibuga Yerusaalemu ekiggya, ekikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda wange. Era ndimuwandiikako erinnya lyange eriggya. Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Lawodiikiya muwandiikire nti: Oyo ayitibwa Amiina, Omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, asibukamu ebyo Katonda bye yatonda, bino by'agamba nti: Mmanyi by'okola. Mmanyi nga tonnyogoga era tobuguma. Waakiri nno obe ng'onnyogoga, oba ng'obuguma! Naye kubanga oli wa kibuguumirize: tonnyogoga ate tobuguma, nja kukuwandula ove mu kamwa kange, kubanga ogamba nti: ‘Ndi mugagga, nnina ebintu bingi, siriiko kye njula.’ Sso nga tomanyi ng'oli munaku era asaasirwa, ng'oli mwavu, muzibe, era ng'oli bwereere. “Nkuwa amagezi onguleko zaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, era onguleko engoye enjeru oyambale, owone ensonyi ez'okuyita obwereere, onguleko n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe. “Nze bonna be njagala mbanenya era mbabonereza. Kale nyiikira, weenenye. Nzuuno nnyimiridde ku luggi, nkonkona. Awulira eddoboozi lyange n'aggulawo oluggi, nnaayingira omumwe, ne tuliira wamu ffembi. Oyo awangula, ndimukkiriza okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, nga nange bwe nawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka. “Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo.” Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba oluggi olugguddwawo mu ggulu. Era eddoboozi lye nasooka okuwulira nga livuga ng'akagombe ne liŋŋamba nti: “Yambuka wano, nkulage ebiteekwa okuddirira bino.” Amangwago Mwoyo n'anjijako, ne ndaba entebe ey'obwakabaka eteekeddwa mu ggulu, era nga ku ntebe eyo kuliko agituddeko. Oyo eyali agituddeko, ng'endabika ye afaanana ng'amayinja ag'omuwendo aga yasipero ne sarudiyo. Entebe eyo yali yeetooloddwa musoke, afaanana ng'ejjinja eriyitibwa sumaridi. Okwetooloola entebe ey'obwakabaka, waaliwo entebe ez'obwakabaka endala amakumi abiri mu nnya, nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, abambadde ebyambalo ebyeru, era nga batikkidde ku mitwe gyabwe engule eza zaabu. Mu ntebe eyo ey'obwakabaka ne muvaamu okumyansa, n'amaloboozi, n'okubwatuka. Waaliwo n'ettaala musanvu ezaaka mu maaso g'entebe eyo. Ezo gye myoyo omusanvu egya Katonda. Zek 4:2 Mu maaso g'entebe eyo, waaliwo ekiri ng'ennyanja ey'endabirwamu, ekifaanana ejjinja eritangalijja. Ate okwetooloola entebe eyo, ku buli ludda lwayo, ng'eriyo ebiramu bina, nga mu maaso n'emabega waabyo bijjudde amaaso. Ekiramu ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng'ente ennume. Ekyokusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu, ekyokuna nga kifaanana ng'empungu ebuuka. Buli kimu ku biramu ebyo ebina, nga kirina ebiwaawaatiro mukaaga, era ebiramu ebyo nga bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda, era emisana n'ekiro, awatali kusalawo, nga bigamba nti: “Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mukama Katonda, Omuyinzawaabyonna, eyabaawo era abaawo, era ajja okubaawo!” Ebiramu ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, era omulamu emirembe n'emirembe, ne bimutenda era ne bimwebaza, bo abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, omulamu emirembe n'emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g'entebe eyo, nga bwe bagamba nti: “Mukama Katonda waffe, osaanidde okutiibwa n'okutendebwa, era n'okubeera n'obuyinza, kubanga ggwe watonda byonna, era byatondebwa ne bibaawo nga bwe wayagala.” Ne ndaba omuzingo gw'ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, nga kiwandiikiddwa munda ne kungulu, era nga kisibiddwa n'obubonero musanvu. Awo ne ndaba malayika ow'amaanyi. N'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Ani asaanidde okubembula obubonero ku muzingo gw'ekitabo, n'okugwanjuluza?” Ne wataba n'omu mu ggulu ne ku nsi, wadde wansi w'ensi, ayinza okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo, wadde okugutunulamu. Nze ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabikawo asaanira okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo, wadde okugutunulamu. Awo omu ku bakadde n'aŋŋamba nti: “Tokaaba. Laba, Empologoma ow'omu Kika kya Yuda muzzukulu wa Dawudi yawangula, era asobola okubembula obubonero omusanvu, n'okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo.” Ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'ayimiridde wakati awali entebe ey'obwakabaka, nga yeetooloddwa ebiramu ebina, n'abakadde, ng'afaanana ng'eyattibwako. Yalina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egyatumibwa mu nsi zonna. N'agenda, n'aggya omuzingo gw'ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka. Bwe yagukwata, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu abana, ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'Endiga. Buli omu yalina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane: ze ssaala z'abantu ba Katonda. Ne bayimba oluyimba oluggya nga bagamba nti: “Osaanidde okutwala omuzingo gw'ekitabo, n'okubembula obubonero bwagwo, kubanga wattibwa, era olw'okufa kwo, wanunulira Katonda abantu mu bika byonna, ne mu nnimi zonna, ne mu bantu bonna, ne mu mawanga gonna, n'obafuula Obwakabaka era bakabona ba Katonda waffe, ab'okufuga ensi.” Awo ne ntunula era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi, enkumi n'enkumi, obukadde n'obukadde, nga beetoolodde entebe ey'obwakabaka n'ebiramu, n'abakadde. Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Omwana gw'Endiga, ggwe eyattibwa, osaanidde okubeera n'obuyinza, n'obugagga, n'amagezi, n'amaanyi, era osaanidde okuweebwa ekitiibwa, n'okugulumizibwa, n'okutendebwa!” Era ne mpulira buli kitonde mu ggulu ne ku nsi, ne wansi w'ensi ne mu nnyanja, byonna nga bigamba nti: “Oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka era n'Omwana gw'Endiga, atenderezebwe, aweebwe ekitiibwa; agulumizibwe, era abe n'obuyinza emirembe n'emirembe!” Ebiramu ebina ne bigamba nti: “Amiina.” N'abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama ne basinza. Awo ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'abembula akamu ku bubonero omusanvu, era ne mpulira ekimu ku biramu ebina, nga kyogera mu ddoboozi eriri nga laddu nti: “Jjangu!” Ne ntunula, ne ndaba embalaasi enjeru. Oyo agyebagadde yalina omutego. N'aweebwa engule, n'agenda ng'awangula, alyoke awangulire ddala. Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kigamba nti: “Jjangu!” Ne wavaayo embalaasi endala, nga mmyufu. Oyo agyebagadde yalina obuyinza okuleeta olutalo ku nsi, abantu battiŋŋane. N'aweebwa ekitala ekinene. Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookusatu, ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kigamba nti: “Jjangu!” Ne ntunula, ne ndaba embalaasi enzirugavu. Oyo agyebagadde yalina minzaani mu mukono gwe. Ne mpulira ng'eddoboozi eryogerera wakati w'ebiramu we byali, nga ligamba nti: “Ekigero kimu eky'eŋŋaano, kya mpeera ya lunaku lumu; n'ebigero bisatu ebya bbaale bya mpeera ya lunaku lumu. Omuzigo n'omwenge ogw'emizabbibu tobyonoona.” Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookuna, ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kigamba nti: “Jjangu!” Ne ntunula, ne ndaba embalaasi eya kivuvvu. Agyebagadde erinnya lye nga ye Kufa, ate Magombe ng'ajja amugoberera. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekimu ekyokuna eky'ensi, bassise ekitala n'enjala n'endwadde, n'ebisolo eby'oku nsi. Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookutaano, ne ndaba wansi wa alutaari, emyoyo gy'abo abattibwa olw'okukkiriza ekigambo kya Katonda, n'olw'okukitegeeza abantu. Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nga bagamba nti: “Mukama Omutuukirivu era ow'amazima, olituusa ddi obutasalira bantu ba ku nsi musango kubasinga, n'obabonereza olw'okututta?” Buli omu ku bo n'aweebwa ekyambalo ekyeru, ne bagambibwa okugira nga balindako akaseera katono okutuusa omuwendo gwa baweereza bannaabwe era baganda baabwe ab'okutiibwa nga bo, lwe guliwera. Awo ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'abembula akabonero ak'omukaaga. Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjuba n'ezikira n'efaanana ng'ekikutiya ekiddugala, n'omwezi gwonna ne gumyuka ng'omusaayi. 24:29; Mak 13:24-25; Luk 21:25 Emmunyeenye ne ziva ku ggulu ne zigwa ku nsi, ng'ebibala by'omuti omutiini ebitannayengera bwe bikunkumuka wansi nga kibuyaga ow'amaanyi agunyeenyezza. Eggulu nalyo ne livaawo ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwako. Buli lusozi na buli kizinga ne biggyibwa mu bifo byabyo. Bakabaka b'ensi, n'abakungu, n'abakulu b'amagye, n'abagagga, n'ab'amaanyi, n'abantu bonna, abaddu n'ab'eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi ez'oku nsozi. Ne bagamba ensozi n'amayinja nti: “Mutugweko, mutukweke, oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka aleme kutulaba, era mutuwonye obusungu bw'Omwana gw'Endiga. Olunaku Katonda n'Omwana gw'endiga lwe balisunguwalirako lutuuse, ani ayinza okuguma?” Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba bamalayika bana, nga bayimiridde ku nsonda ennya ez'ensi, nga baziyiza embuyaga ennya ez'ensi, waleme kubaawo mbuyaga ekunta ku nsi, oba ku nnyanja, wadde ku muti n'ogumu. Ate ne ndaba malayika omulala ng'ayambuka ng'ava ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda Nnannyinibulamu. N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'ayita bamalayika abana abaalagirwa okukola akabi ku nsi ne ku nnyanja. N'agamba nti: “Temukola kabi ku nsi, oba ku nnyanja, wadde ku miti, okutuusa lwe tulimala okuteeka akabonero mu byenyi by'abaweereza ba Katonda waffe!” Awo ne mpulira omuwendo gw'abo abaateekebwako akabonero. Baali emitwalo kkumi n'ena, mu enkumi nnya, abaava mu buli kika ky'abantu ba Yisirayeli. Ab'omu Kika kya Yuda, abaateekebwako akabonero, baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Rewubeeni, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Gaadi, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Aseeri, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Nafutaali, omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab'omu Kika kya Manasse, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Simyoni, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Leevi, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Yissakaari, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Zebbulooni, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Yosefu, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; n'ab'omu Kika kya Benyamiini, omutwalo gumu mu enkumi bbiri. Ebyo bwe byaggwa, ne ntunula, ne ndaba ekibiina kinene eky'abantu, omuntu b'atayinza kubala. Baava mu mawanga gonna ne mu bika byonna, ne mu bantu bonna, ne mu nnimi zonna. Ne bayimirira mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'Omwana gw'Endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, nga bakutte n'amatabi g'enkindu. Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka, ne bagamba nti: “Twalokolebwa Katonda waffe atudde ku ntebe ey'obwakabaka, era n'Omwana gw'Endiga!” Bamalayika bonna baali bayimiridde, nga beetoolodde entebe ey'obwakabaka n'abakadde, n'ebiramu ebina. Awo ne bavuunama mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne basinza Katonda, nga bwe bagamba nti: “Amiina. Katonda waffe oweekitiibwa n'amagezi, era ow'obuyinza n'amaanyi agulumizibwenga, atenderezebwenga, era yeebazibwenga emirembe n'emirembe. Amiina.” Awo omu ku bakadde n'ambuuza nti: “Bano abambadde ebyambalo ebyeru be baani, era bava wa?” Ne mmuddamu nti: “Mukama wange, ggwe omanyi.” N'aŋŋamba nti: “Bano be baayita mu kubonaabona okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'Endiga. Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda, ne baweereza emisana n'ekiro mu Ssinzizo lye. Era oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, anaabeeranga nabo ng'abakuuma. “Tebaliddayo kulumwa njala na nnyonta. Tebalyokebwa njuba, wadde ekyokya ekirala kyonna, kubanga Omwana gw'Endiga, ali wakati w'entebe ey'obwakabaka, anaabalabiriranga, abakulembere, abatuuse ku nsulo z'amazzi ag'obulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.” Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero ak'omusanvu, ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu okumala nga kitundu kya ssaawa. Ne ndaba bamalayika musanvu abayimirira mu maaso ga Katonda, ne baweebwa eŋŋombe musanvu. Ne malayika omulala n'ajja, n'ayimirira mu maaso g'ekyoto, ng'alina ekyoterezo ekya zaabu. N'aweebwa obubaane bungi abuweerereze wamu n'essaala z'abantu ba Katonda bonna, ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso g'entebe ya Katonda. Omukka gw'obubaane, awamu n'essaala z'abantu ba Katonda, ne biva mu ngalo za malayika, ne byambuka mu maaso ga Katonda. Malayika oyo n'atwala ekyoterezo ekyo, n'akijjuza omuliro, ng'aguggya mu kyoto, n'akisuula ku nsi. Ne wabaawo okubwatuka, n'okuwuuma, n'okukankana kw'ensi. Awo bamalayika omusanvu abaalina eŋŋombe omusanvu, ne bateekateeka okuzifuuwa. Malayika asooka n'afuuwa eŋŋombe ye, ne wabaawo omuzira n'omuliro nga bitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emiti, na buli muddo omubisi, ne biggya. Ne malayika owookubiri n'afuuwa eŋŋombe ye. Ekintu ekiri ng'olusozi olunene olwaka omuliro, ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ennyanja ne kifuuka omusaayi, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja ne kifa, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'amaato aga buli ngeri ne kizikirira. Malayika owookusatu n'afuuwa eŋŋombe ye. Emmunyeenye ennene n'eva ku ggulu, ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu ekimu ekyokusatu eky'emigga ne mu nzizi z'amazzi. Erinnya ly'emmunyeenye eyo nga ye Kakaayira. Abantu bangi ne bafa olw'okunywa amazzi ago kubanga gaafuulibwa agakaawa. Malayika owookuna n'afuuwa eŋŋombe ye. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'enjuba, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'omwezi, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emmunyeenye ne bikubibwa, ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ekitangaala kyabyo ne kizikira. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'olunaku ne kitaba na kitangaala, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ekiro nakyo bwe kityo. Bwe natunula, ne mpulira empungu ebuukira waggulu mu bbanga ng'eyogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Akabi! Akabi! Akabi kajja kugwira abali ku nsi, eŋŋombe endala bwe zinaavuga, bamalayika abasatu ze bagenda okufuuwa!” Awo malayika owookutaano n'afuuwa eŋŋombe ye. Ne ndaba emmunyeenye eyali yava waggulu n'egwa wansi, n'eweebwa ekisumuluzo ekiggula obunnya obutakoma. Emmunyeenye eyo n'eggulawo obunnya obutakoma. Mu bunnya obwo ne muvaamu omukka ng'oguva mu nkoomi ennene, enjuba n'ebbanga ne bikwata ekizikiza olw'omukka ogwo ogwava mu bunnya. Mu mukka ogwo ne muvaamu enzige, ne zijja ku nsi, era ne ziweebwa obuyinza, ng'obwo obw'enjaba ez'obusagwa ez'oku nsi ze bulina. Enzige ezo ne zigaanibwa okwonoona omuddo, oba emiti, wadde ebimera ebirala, wabula okubonyaabonya abantu abo bokka abatalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe. Kyokka ne zitakkirizibwa kubatta, wabula okubabonyaabonyeza emyezi etaano. Obulumi omuntu bw'awulira nga zimulumye, nga buli ng'obw'oyo alumiddwa enjaba ey'obusagwa. Mu nnaku ezo abantu balinoonya olumbe lubatte, ne batalulaba, balyegomba okufa, naye kulibadduka. Mu ndabika, enzige ezo zaali zifaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olw'olutalo. Ku mitwe gyazo nga kuliko ebifaanana ng'engule eza zaabu, n'amaaso gaazo nga gafaanana ng'ag'abantu. Obwoya bwazo bwali bufaanana ng'enviiri z'abakazi, amannyo gaazo nga gafaanana ng'ag'empologoma. Ebifuba byazo byali bibikkiddwako ebintu ebiri ng'engabo ez'ekyuma. Okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byazo kwali ng'okw'amagaali amangi, agasikibwa embalaasi ezifubutuka okugenda ku lutalo. Zaalina emikira ng'egy'enjaba ez'obusagwa, nga giriko n'enkato, era ng'amaanyi gaazo ag'okubonyaabonya abantu okumala emyezi etaano, gali mu mikira gyazo egyo. Zaalina kabaka waazo azifuga, nga ye malayika w'obunnya obutakoma. Erinnya lye mu Lwebureeyi ye Abaddoni, mu Luyonaani Apoliyoni, eritegeeza Nnamuzisa. Ekikangabwa ekisooka ne kiggwa, ate ng'ekyaliyo ebikangabwa ebirala bibiri ebijja. Awo malayika ow'omukaaga n'afuuwa eŋŋombe ye. Ne mpulira eddoboozi eriva mu nsonda ennya ez'ekyoto ekya zaabu, ekiri mu maaso ga Katonda. Eddoboozi eryo ne ligamba malayika ow'omukaaga, eyalina eŋŋombe nti: “Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Ewufuraate.” Awo bamalayika abana ne basumululwa. Baali nga baategekerwa dda essaawa eyo, n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky'abantu. Ne mpulira omuwendo ogw'eggye ery'abeebagadde embalaasi: baali omutwalo gumu emirundi ebiri, emirundi omutwalo gumu. Era mu kulabikirwa kuno, ne ndaba embalaasi n'abazeebagadde, nga bambadde mu bifuba ebintu ebyengeredde ng'omuliro, ebya bbululu, n'ebya kyenvu. Emitwe gy'embalaasi ezo gyali ng'egy'empologoma, mu kamwa kaazo nga muvaamu omuliro, n'omukka, n'ensasi z'omuliro. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'abantu ne kittibwa ebibonyoobonyo bino ebisatu: omuliro, n'omukka, n'ensasi z'omuliro, ebyavanga mu kamwa k'embalaasi ezo, kubanga obuyinza bw'embalaasi ezo bwali mu kamwa kaazo ne mu mikira gyazo. Emikira gyazo gyali ng'emisota egirina emitwe, era emitwe egyo nga gye zirumisa. Abantu abalala abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo bino, tebeenenya ebyo bye baakolanga, era tebaalekayo kusinza emyoyo emibi n'ebifaananyi ebya zaabu, n'ebya ffeeza, n'eby'ekikomo, n'eby'amayinja, n'eby'emiti, ebitayinza kulaba, oba okuwulira, wadde okutambula. Era tebeenenya butemu bwabwe, n'obulogo bwabwe, n'obwenzi bwabwe, era n'obubbi bwabwe. Awo ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi, nga ava mu ggulu, ng'akka. Yali ayambadde ekire, ku mutwe gwe nga kuliko musoke; amaaso ge nga gali ng'enjuba, n'ebigere bye, nga biri ng'empagi ez'omuliro. Yalina mu ngalo ze omuzingo gw'akatabo, nga mubikkule. Ekigere kye ekya ddyo n'akiteeka ku nnyanja, ekya kkono n'akiteeka ku lukalu. N'aleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka ng'ery'empologoma ewuluguma. Bwe yaleekaana, eggulu ne libwatuka emirundi musanvu. Eggulu bwe lyabwatuka emirundi omusanvu, nali ŋŋenda okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Ebyo eggulu eribwatuse emirundi omusanvu bye lyogedde, bikuume nga bya kyama, era tobiwandiika.” Awo malayika gwe nalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu, n'agolola waggulu omukono gwe ogwa ddyo, n'alayira Katonda Nnannyinibulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu ne byonna ebirimu, n'ensi ne byonna ebirimu, n'ennyanja ne byonna ebirimu. Malayika oyo n'agamba nti: “Tewakyali kulwa. Naye mu kiseera ekyo, malayika ow'omusanvu ky'alifuuyiramu eŋŋombe ye, Katonda alituukiriza ekyama kye, nga bwe yategeeza abaweereza be abalanzi.” Eddoboozi lye nawulira nga liva mu ggulu, ne nziramu okuliwulira nga liŋŋamba nti: “Genda okwate omuzingo omwanjuluze, oguli mu ngalo za malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.” Ne ŋŋenda eri malayika, ne mmusaba ampe omuzingo gw'akatabo. N'aŋŋamba nti: “Gukwate ogulye. Gujja kukukaayirira mu lubuto lwo, naye mu kamwa ko, gujja kuwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.” Ne nzigya omuzingo gw'akatabo mu ngalo za malayika, ne ngulya. Ne guwoomerera mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki, naye bwe nagumira, ne gukaayira mu lubuto lwange. Awo malayika n'aŋŋamba nti: “Oteekwa okuddamu okulanga ebyo ebiriba ku bantu abangi, ne ku mawanga, ne ku nnimi, ne ku bakabaka.” Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, ne wabaawo aŋŋamba nti: “Situka opime Essinzizo lya Katonda, ne alutaari, era obale abasinzizaamu. Naye oluggya oluli ebweru w'Essinzizo lya Katonda luleke, tolupima, kubanga lwaweebwa bantu ab'ensi, abalirinnyirira ekibuga ekitukuvu, okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. Ndituma abajulirwa bange babiri, nga bambadde ebikutiya, ne mbawa obuyinza bamale ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bategeeza abantu ekigambo kya Katonda.” Abajulirwa abo ababiri gy'emiti emizayiti ebiri, n'ebikondo by'ettaala ebibiri, ebiri mu maaso ga Mukama w'ensi. Bwe wabaawo ayagala abo okubakolako akabi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe. Bwe kityo buli ayagala okubakolako akabi, ateekwa okuttibwa. Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba n'etetonnya mu kiseera kye bategeerezaamu abantu ekigambo kya Katonda. Era balina obuyinza ku mazzi, okugafuula omusaayi. Balina n'obuyinza okuleeta ku nsi ebibonyoobonyo ebya buli ngeri buli lwe baagadde. Bwe balimala okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, ekisolo ekiva mu bunnya obutakoma, kirirwana nabo, ne kibawangula, ne kibatta. Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z'ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba. Erinnya ly'ekibuga ekyo ery'olugero ye Sodoma oba Misiri. Abantu aba buli ngeri, n'ab'ebika byonna, n'ab'ennimi zonna, n'ab'amawanga gonna, balitunuulira emirambo gyabwe, okumala ennaku ssatu n'ekitundu, ne batagikkiriza kuziikibwa. Abantu ab'oku nsi balisanyuka olw'okufa kw'abo bombi. Balijaguza, era baliweerezaganya ebirabo, kubanga abalanzi abo ababiri baabonyaabonya nnyo ab'oku nsi. Ennaku essatu n'ekitundu bwe zaayitawo, omwoyo ogw'obulamu oguva eri Katonda, ne gubayingiramu, ne bava we bagudde ne bayimirira. Abaabalaba ne batya nnyo. Abalanzi abo ababiri ne bawulira eddoboozi ery'omwanguka eriva mu ggulu nga libagamba nti: “Mujje eno!” Ne balinnya mu ggulu nga bagendera mu kire, ng'abalabe baabwe balaba. Mu kaseera ako kennyini, ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi. Ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kizikirira, n'abantu kasanvu ne battibwa okukankana kw'ensi. Abantu abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne batendereza ekitiibwa kya Katonda ow'omu ggulu. Ekikangabwa ekyokubiri kiyise, naye laba, ekikangabwa ekyokusatu kinaatera okutuuka! Awo malayika ow'omusanvu n'afuuwa eŋŋombe ye. Ne wabaawo amaloboozi ag'omwanguka, nga gagamba nti: “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe era bwa Kristo, era anaafuganga emirembe n'emirembe.” Awo abakadde amakumi abiri mu abana abatuula mu maaso ga Katonda, ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama, ne basinza Katonda, nga bwe bagamba nti: “Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna, abaawo era eyabaawo, tukwebaza, kubanga weddizza obuyinza bwo n'otandika okufuga. Abantu ab'ensi baasunguwala nnyo. Naye n'obusungu bwo ne bujja; obudde ne butuuka okusalira abafu omusango, n'okuwa empeera abaweereza bo abalanzi, n'abantu bo bonna abakulu n'abato abakussaamu ekitiibwa. Era obudde ne butuuka okusaanyaawo abo abazikiriza ensi.” Essinzizo lya Katonda ery'omu ggulu ne liggulwawo, n'essanduuko ey'endagaano ye n'erabika mu Ssinzizo lye. Ne wabaawo okumyansa, n'amaloboozi, n'okubwatuka, n'okukankana kw'ensi, n'omuzira mungi. Ekyewuunyisa ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo omukazi ng'ayambadde enjuba, ate ng'omwezi guli wansi w'ebigere bye, ku mutwe gwe nga kuliko engule ya mmunyeenye kkumi na bbiri. Yali lubuto, ng'alumwa, n'aleekaana mu bulumi obw'okuzaala. Ekyewuunyisa ekirala ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo ogusota ogunene ogumyufu, nga gulina emitwe musanvu, n'amayembe kkumi, nga ku buli mutwe kuliko engule. Omukira gwagwo ne guwalula ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emmunyeenye ez'oku ggulu, ne gukisuula ku nsi. Ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi eyali okumpi okuzaala, gulyoke gumire omwana we. Omukazi n'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna, ng'akozesa omuggo ogw'ekyuma. Kyokka omwana we n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka. Awo omukazi n'addukira mu ddungu, mu kifo ekyateekebwateekebwa Katonda, omukazi oyo bamuliisize eyo, okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga. Olwo ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayeli ne bamalayika be ne balwanyisa ogusota. Ogusota nagwo ne gubalwanyisa ne bamalayika baagwo. Naye ogusota ne guwangulwa. Gwo ne bamalayika baagwo, ne batakkirizibwa kwongera kusigala mu ggulu. Ogusota ogwo ogunene, gwe musota ogw'edda oguyitibwa Omubi era Sitaani alimbalimba ensi zonna, ne gusuulibwa ku nsi, awamu ne bamalayika baagwo. Ne mpulira mu ggulu eddoboozi ery'omwanguka, erigamba nti: “Kaakano Katonda waffe atulokodde. Alaze amaanyi ge, n'obwakabaka bwe, n'obuyinza bwa Kristo we, kubanga oyo alonkoma baganda baffe, n'abaloopa emisana n'ekiro mu maaso ga Katonda waffe, agobeddwa mu ggulu. Baganda baffe baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'Endiga, n'olw'amazima, ge baategeeza abantu, ne bawaayo obulamu bwabwe okutuuka ne ku kufa. Kale musanyuke mmwe eggulu n'abalirimu. Naye mmwe ensi n'ennyanja, zibasanze, kubanga Sitaani asse gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amanyi nti alina akaseera katono!” Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi. Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke atuuke mu kifo kye mu ddungu, gy'alirabirirwa okumala emyaka esatu n'ekitundu ng'ogusota tegumutuukako. Omusota ne guwandula amazzi okuva mu kamwa kaagwo, nga gali ng'omugga, ne gagoberera omukazi, gamukulugguse. Naye ensi n'eyamba omukazi: n'eyasamya akamwa kaayo, n'emira omugga ogwava mu kamwa k'ogusota. Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwanyisa ab'omu zadde lye abaasigalawo, abo bonna abakwata ebiragiro bya Katonda ne banywerera ku ebyo Yesu bye yabategeeza. Awo ogusota ne guyimirira ku lubalama lw'Ennyanja. Awo ne ndaba ekisolo nga kiva mu nnyanja. Kyalina amayembe kkumi n'emitwe musanvu. Kyalina engule ku buli jjembe, ne ku mitwe gyakyo nga kuliko amannya agavvoola Katonda. Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng'engo, ebigere byakyo nga biri ng'eby'eddubu, akamwa kaakyo nga kali ng'ak'empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo, n'entebe yaagwo ey'obwakabaka, n'obuyinza bungi. Ogumu ku mitwe gy'ekisolo gwali gulabika ng'ogufumitiddwa ekiwundu eky'okugutta. Naye ekiwundu ekyo eky'okugutta, ne kiwona. Ensi zonna ne zisigala nga zeewuunya ekisolo ekyo. Abantu ne basinza ogusota, kubanga gwawa ekisolo obuyinza bwagwo. N'ekisolo ne bakisinza, nga bwe bagamba nti: “Ani yenkana ekisolo kino, era ani ayinza okulwana nakyo?” Ekisolo ne kirekebwa okwogera eby'okwewaana n'okuvuma Katonda, era ne kikkirizibwa okuba n'obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. Ne kitandika okuvvoola Katonda, n'okwogera obubi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw'abeera, ne kivuma n'ababeera mu ggulu. Era ne kikkirizibwa okulwanyisa abantu ba Katonda n'okubawangula, era ne kiweebwa obuyinza ku bika byonna ne ku bantu bonna, ne ku nnimi zonna, ne ku mawanga gonna. Abantu bonna abali ku nsi, kwe kugamba, abo okuva ensi lwe yatondebwa, abataawandiikibwa mannya gaabwe mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga eyattibwa, balisinza ekisolo ekyo. Buli alina amatu awulire! Buli eyategekerwa okutwalibwa mu busibe, wa kusiba. Buli eyategekerwa okuttibwa n'ekitala, wa kufa kitala. Awo okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abantu ba Katonda we kutegeererwa. Awo ne ndaba ekisolo ekirala nga kiva mu ttaka. Kyalina amayembe abiri ng'ag'omwana gw'endiga, era nga kyogera ng'ogusota. Ne kikozesa obuyinza bwonna obw'ekisolo ekyasooka, nga n'ekyo kyennyini ekyasooka kiraba. Ne kiwaliriza ensi n'abagirimu, basinze ekisolo ekyasooka, ekyawona ekiwundu ekyali ekyokukitta. Ekisolo kino ekyokubiri ne kikola ebyewuunyo. Ne kiragira omuliro ne guva mu ggulu, ne gukka ku nsi ng'abantu bonna balaba. Ne kirimbalimba abantu abali ku nsi, nga kikozesa ebyewuunyo bye kyakkirizibwa okukolera mu maaso g'ekisolo ekyasooka. Ne kibalagira okukola ekifaananyi ky'ekisolo ekyo ekyafumitibwa ekitala naye ne kisigala nga kiramu. Ekisolo kino ekyokubiri ne kikkirizibwa n'okussa omukka ogw'obulamu mu kifaananyi ekyo eky'ekisolo ekyasooka, ekifaananyi kyogere, era kissise bonna abagaana okukisinza. Abantu bonna, abato n'abakulu, abagagga n'abaavu, ab'eddembe n'abaddu, ekisolo ne kibawaliriza okuteekebwako akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi. Buli muntu n'agaanibwa okubaako ky'agula oba ky'atunda, okuggyako ng'amaze okuteekebwako akabonero ako, kwe kugamba, erinnya ly'ekisolo, oba ennamba etegeeza erinnya lyakyo. Ekyo kyetaagisa amagezi! Ow'amagezi yeetegereze amakulu g'ennamba y'ekisolo ekyo, kubanga ye nnamba etegeeza erinnya ly'omuntu. Ennamba yaakyo eri lukaaga mu nkaaga mu mukaaga. Bwe nayimusa amaaso, ne ndaba omwana gw'Endiga ng'ayimiridde ku Lusozi Siyooni, ng'ali wamu n'abantu emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya, ng'erinnya lye n'erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi byabwe. Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga liri ng'ery'okuyira kw'amazzi amangi, era nga liri ng'eddoboozi ly'okubwatuka kw'eraddu okw'amaanyi. Eddoboozi eryo lye nawulira lyali ng'ery'ennyimba z'abakubi b'ennanga nga bakuba ennanga zaabwe. Ne bayimba oluyimba nga bali mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, n'ag'ebiramu ebina, n'ag'abakadde. Oluyimba olwo nga luli ng'oluggya, era nga tewali mulala ayinza kuluyiga, okuggyako abo bokka emitwalo ekkumi n'ena mu enkumi ennya, abaali banunuddwa mu nsi. Abo be bateeyonoona na bakazi, ne basigala nga batukuvu. Abo ne bagenda n'Omwana gw'Endiga buli gy'agenda. Baanunulwa mu bantu abalala, ne baba ababereberye mu kuweebwayo eri Katonda, n'eri Omwana gw'Endiga. Teboogerangako bya bulimba, era tebabangako kamogo. Awo ne ndaba malayika omulala ng'abuukira waggulu mu bbanga, ng'alina Amawulire Amalungi ag'emirembe n'emirembe, g'aweereddwa okutegeeza abali ku nsi, ab'amawanga gonna, n'ab'ebika byonna, n'ab'ennimi zonna, n'abantu bonna. N'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera kituuse asale omusango. Kale mumusinze eyatonda eggulu n'ensi, n'ennyanja, n'ensulo z'amazzi.” Ne malayika owookubiri n'agoberera ng'agamba nti: “Kigudde, kigudde Babilooni ekibuga ekinene. Ebibi byakyo eby'obukaba n'obwenzi byaleetera amawanga gonna ag'oku nsi okwonoona mu ngeri ye emu. Ekibuga ekyo kyali ng'ekinywesezza amawanga gonna omwenge. Kale Katonda kyaliva agabonereza.” Malayika owookusatu n'agoberera bali ababiri, ng'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Buli muntu asinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, n'akkiriza n'okuteekebwako akabonero mu kyenyi kye, oba ku mukono gwe, Katonda alimubonereza n'obukambwe. Aliba ng'anywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogutajunguluddwa, ogufukiddwa mu kikopo ky'obusungu bwa Katonda. Era alibonyaabonyezebwa n'omuliro, n'ebibiriiti, mu maaso ga bamalayika abatukuvu, n'ag'Omwana gw'Endiga. Omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gwa kunyooka emirembe n'emirembe. Abasinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, na buli alina akabonero k'erinnya lyakyo, tebalibaako we bawummulira emisana n'ekiro.” Kino kitegeeza nti abantu ba Katonda basaana okuba n'okugumiikiriza, be bantu ba Katonda abakwata ebiragiro bye, ne bagoberera Yesu n'obwesigwa. Awo ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga ligamba nti: “Wandiika nti: Okuva kati balina omukisa abafa nga bagoberezi ba Mukama waffe. Ddala bw'atyo Mwoyo bw'agamba nti okutegana kwabwe kuwedde, bawummule, kubanga ebikolwa byabwe bagenda nabyo.” Awo ne nnyimusa amaaso, ne ndaba ekire ekyeru, era nga ku kire ekyo, kutuddeko afaanana ng'Omwana w'Omuntu, ng'alina engule eya zaabu ku mutwe gwe, n'ekiwabyo mu ngalo ze. Awo malayika omulala nava mu Ssinzizo, ng'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'agamba oyo atudde ku kire nti: “Kozesa ekiwabyo kyo, okungule. Ekiseera eky'amakungula kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi byengedde.” Awo oyo atudde ku kire n'awuuba ekiwabyo kye ku nsi, eby'oku nsi ne bikungulwa. Malayika omulala n'ava mu Ssinzizo ery'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo ekyogi. Awo ne malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro n'ava ku kyoto, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'agamba oyo alina ekiwabyo ekyogi nti: “Kozesa ekiwabyo kyo ekyogi, okungule ebirimba by'emizabbibu egy'oku nsi, kubanga ebirimba byagyo byengedde.” Awo malayika n'awuuba ku nsi ekiwabyo kye, n'akungula ebirimba byayo eby'emizabbibu, n'abisuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda. Ebirimba ne bisogolerwa ebweru w'ekibuga, essogolero ne livaamu omusaayi, ne gutuuka ku bugulumivu obusobola okubulizaamu amagulu g'embalaasi, ne gukulukuta kilomita nga ebikumi bisatu. Ate ne ndaba ekyamagero ekirala mu ggulu, ekinene era ekyewuunyisa. Waaliwo bamalayika musanvu, nga balina ebibonyoobonyo musanvu ebisembayo, kubanga bye bimalayo obusungu bwa Katonda. Era ne ndaba ekiri ng'ennyanja ey'endabirwamu etabuddwamu omuliro. Ne ndaba n'abo abaawangula ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, ekyalina ennamba nga lye linnya lyakyo, nga bayimiridde ku lubalama lw'Ennyanja eyo ey'endabirwamu, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. Ne bayimba oluyimba lwa Musa, omuweereza wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'Endiga, nga bagamba nti: “Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna, by'okola bikulu era byewuunyisa! Kabaka ow'emirembe n'emirembe, amakubo go matuufu era ga mazima. Mukama, ani atalikutya era atalissaamu linnya lyo kitiibwa? Ggwe wekka Ggwe mutuukirivu. Abantu b'amawanga gonna balijja ne basinziza mu maaso go, kubanga ebikolwa byo eby'obutuukirivu, birabise.” Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba Essinzizo ery'omu ggulu nga liggule, era nga lirimu eweema ekakasa nti Katonda ali n'abantu be. Mu Ssinzizo eryo, ne muvaamu bamalayika musanvu, abalina ebibonyoobonyo omusanvu, nga bambadde engoye enjeru ezitukula, era nga beesibye mu bifuba enkoba eza zaabu. Ekimu ku biramu ebina, ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu, ebijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n'emirembe. Essinzizo ne lijjula omukka oguva mu kitiibwa kye, ne mu maanyi ge, nga tewali ayinza kuliyingiramu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu ebya bamalayika omusanvu, lwe byakomekkerezebwa. Ne mpulira eddoboozi ery'omwanguka eriva mu Ssinzizo, nga ligamba bamalayika omusanvu nti: “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu eby'obusungu bwa Katonda.” Malayika ow'olubereberye n'agenda, n'ayiwa ekibya kye ku nsi. Amabwa amanene era amabi ennyo ne gakwata abantu abaalina akabonero k'ekisolo, n'abo abasinza ekifaananyi kyakyo. Malayika owookubiri n'ayiwa ekibya kye mu nnyanja. Ennyanja n'efuuka ng'omusaayi gw'omufu, buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja ne kifa. Malayika owookusatu n'ayiwa ekibya kye mu migga ne mu nsulo z'amazzi, ne bifuuka omusaayi. Ne mpulira malayika alabirira amazzi ng'agamba nti: “Ggwe Omutuukirivu, abaawo era eyabaawo, omusango ogusaze mu bwenkanya, kubanga baayiwa omusaayi gw'abantu bo n'ogw'abalanzi, naawe kyovudde obawa omusaayi bagunywe. Ekyo kibasaanidde!” Ne mpulira eddoboozi nga liva ku alutaari, nga ligamba nti: “Weewaawo Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna, ky'okoze kya mazima era kituufu.” Malayika owookuna n'ayiwa ekibya kye ku njuba, n'ekkirizibwa okwokya abantu n'ebbugumu lyayo ery'omuliro. Abantu ne bookebwa ebbugumu ery'amaanyi ennyo, ne bavvoola lya Katonda alina obuyinza ku bibonyoobonyo ebyo, ne batava mu bibi byabwe kumuwa kitiibwa. Malayika owookutaano n'ayiwa ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ekisolo. Obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza, abantu ne beeruma ennimi olw'obulumi. Era olw'obulumi n'olw'amabwa ne bavvoola Katonda, era ne bateenenya ebyo bye baakola. Malayika ow'omukaaga n'ayiwa ekibya kye mu mugga omunene Ewufuraate. Amazzi gaagwo ne gakalira, okutemera bakabaka abava ebuvanjuba ekkubo. Ne ndaba emyoyo emibi esatu, egifaanana ebikere, nga giva mu kamwa k'ogusota n'ak'ekisolo, n'ak'omulanzi ow'obulimba. Egyo gye myoyo emibi egikola ebyewuunyo, era egigenda eri bakabaka b'ensi zonna okubakuŋŋaanya, balwane olutalo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinzawaabyonna, lw'alibonererezaako abakozi b'ebibi bonna. “Laba njija ng'omubbi. Oyo wa mukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, n'atatambula bwereere, aleme kuswala mu bantu.” Emyoyo egyo emibi ne gikuŋŋaanya bakabaka mu kifo ekiyitibwa Arimageddoni mu Lwebureeyi. Malayika ow'omusanvu n'ayiwa ekibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery'omwanguka ne liva ku ntebe ey'obwakabaka mu Ssinzizo, nga ligamba nti: “Kiwedde!” Ne wabaawo okumyansa, n'okuwuuma, n'okubwatuka, n'okukankana kw'ensi okw'amaanyi, okutabangawo kasookedde abantu baba ku nsi. Okukankana kw'ensi okwo kwe kwasingidde ddala okuba okw'amaanyi. Ekibuga ekinene ne kyabikamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'ensi zonna ne bigwa. Katonda n'ajjukira Babilooni ekibuga ekinene, n'akinywesa ekikopo eky'omwenge ogw'obusungu bwe. Ebizinga byonna ne biggwaawo, n'ensozi zonna ne zibulawo. Omuzira omungi, nga buli kitole kizitowa kitole nga makumi ana, ne guva mu ggulu ne gugwa ku bantu. Abantu ne bavvoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira, kubanga kyali kya ntiisa nnyo. Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya, n'ajja, n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Jjangu, nkulage omusango malaaya lukulwe gw'asaliddwa. Malaaya oyo kye kibuga ekyazimbibwa okumpi n'amazzi amangi. Bakabaka b'ensi baayenda naye, n'abantu abali ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe.” Awo mu mwoyo, malayika n'antwala mu ddungu, ne ndaba omukazi ng'atudde ku kisolo ekimyufu, nga kijjudde amannya agavvoola Katonda, era nga kirina emitwe musanvu, n'amayembe kkumi. Omukazi oyo yali ayambadde ebya kakobe n'ebimyufu, nga yeewoomezza ne zaabu, n'amayinja ag'omuwendo ennyo, n'ago ge bayita luulu, ng'akutte ebyenyinyalwa n'eby'obugwagwa eby'obwenzi bwe. Mu kyenyi kye mwali muwandiikiddwamu erinnya ery'amakulu amakusike: “Babilooni ekibuga ekinene, nnyina wa bamalaaya n'ow'ebyenyinyalwa eby'oku nsi.” Ne ndaba ng'omukazi oyo atamidde omusaayi gw'abantu ba Katonda, n'ogw'abo abattibwa olw'okukkiriza Yesu. Bwe namulaba, ne nneewuunya nnyo! Malayika n'aŋŋamba nti: “Lwaki weewuunya? Ka nkubuulire ekyama ekifa ku mukazi oyo, ne ku kisolo ekimusitudde, ekirina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi. Ekisolo ky'olabye kyaliwo, kati tekikyaliwo. Naye kinaatera okuva mu bunnya obutakoma, kigende kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi, amannya gaabwe nga tegaawandiikibwa mu kitabo kya bulamu okuva ensi lwe yatondebwawo, balyewuunya, bwe baliraba ng'ekisolo ekyaliwo, kati tekikyaliwo, ate nga kiriddamu okulabika. “Kino kyetaaga amagezi n'okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z'atuddeko, era be bakabaka musanvu. Abataano ku bo baagwa, omu akyaliwo, omulala tannaba kujja. Era bw'alijja, aliteekwa okumalawo ekiseera kitono. Ate ekisolo ekyaliwo, kati ekitakyaliwo, ekyo ye kabaka ow'omunaana, kyokka nga wa ku bali omusanvu, era agenda kuzikirizibwa. “Amayembe ekkumi g'olabye, be bakabaka ekkumi, abatannaweebwa bwakabaka, naye bo n'ekisolo, baliweebwa obuyinza okufuga nga bakabaka, okumala essaawa emu. Abo bassa kimu, ne bawa ekisolo amaanyi gaabwe n'obuyinza bwabwe. Balirwanyisa Omwana gw'Endiga, kyokka Omwana gw'Endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abakama era ye Kabaka wa bakabaka. N'abagoberezi be, be yayita, be yalondamu era abeesigwa, baliwangula wamu naye.” Malayika era n'aŋŋamba nti: “Amazzi g'olabye malaaya w'atudde, be bantu aba buli ngeri, n'aba buli kibiina, n'aba buli ggwanga, n'aba buli lulimi. Amayembe, ekkumi g'olabye, go awamu n'ekisolo, birikyawa malaaya oyo, ne bimuleka yekka, ng'ali bwereere. Birirya omubiri gwe, ne bimwokera ddala, kubanga Katonda yateeka mu mitima gyabyo okwagala okukola kye yateesa, ne bissa kimu, ne biwa ekisolo obwakabaka, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira. Ate omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekifuga bakabaka b'ensi.” Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba malayika omulala ng'akka ng'ava mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi. Ekitiibwa kye ne kimulisa ensi. N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Kigudde, Babilooni ekibuga ekinene kigudde! Kifuuse kisulo ky'emyoyo emibi; omukuŋŋaanira emyoyo emyonoonefu gyonna, lye kkuŋŋaaniro ly'ebinyonyi byonna ebibi era ebikyayibwa. Amawanga gonna gaatamiira omwenge ogw'obwenzi bwakyo. Bakabaka b'oku nsi baayenda nakyo, n'abasuubuzi b'oku nsi baagaggawalira ku kwejalabya kwakyo okuyitiridde.” Ate ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Abantu bange, mukiveemu, muleme okwetaba mu bibi byakyo n'okugabana ku bibonyoobonyo byakyo, kubanga ebibi byakyo bituuse mu ggulu, ne Katonda ajjukidde ebyonoono byakyo. Mukikole bye kyabakola. Ku bikolwa byakyo, mmwe musinzeewo emirundi ebiri. Ekikopo kye kyabatabulira mmwe mukikitabulire emirundi ebiri. Gye kyakomya okwegulumiza n'okwejalabya, gye muba mukomya okukibonyaabonya n'okukikaabya, kubanga kyewaana nti: ‘Ntudde nga kabaka, siri nnamwandu era siribonaabona n'akatono.’ Ebibonyoobonyo byakyo: okufa, n'okunakuwala, n'enjala, kyebiriva bikijjira olunaku lumu era ne kyokebwa omuliro, kubanga Mukama Katonda akisalira omusango okukisinga, wa maanyi.” Bakabaka b'oku nsi abaayendanga nakyo ne babeera wamu nakyo mu by'amasanyu, bwe baliraba omukka gwakyo nga kyokebwa, balikikaabira ne bakikungubagira. Baliyimirira wala olw'okutya okubonaabona kwakyo, ne bagamba nti: “Zikusanze, zikusanze ggwe Babilooni ekibuga ekinene! Ggwe ekibuga eky'amaanyi, ozikiriziddwa mu ssaawa emu yokka!” Abasuubuzi b'oku nsi nabo bakikaabira ne banakuwala, kubanga tewakyali agula bintu byabwe. Tewakyali agula zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, n'ago agayitibwa luulu; engoye eŋŋonvu eza kakobe, n'eza liiri, n'emmyufu; na buli muti ogw'akawoowo, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo ennyo; n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'amayinja amalungi. Era tewakyali agula bya kaloosa, n'ebirungo by'enva, n'obubaane, n'omuzigo ogw'akawoowo oguyitibwa mirra, n'envumbo; omwenge gw'emizabbibu, n'amafuta; obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'eŋŋaano; ente n'endiga, n'embalaasi n'ebigaali; abaddu n'abantu abanyagibwa mu lutalo. Abasuubuzi balikigamba nti: “Ebirungi byonna bye weegombanga okufuna bikufudde, ebyobugagga byonna n'ebyekitiibwa bikuweddeko, era tokyaddayo kubirabako n'akatono.” Abasuubuzi b'ebintu ebyo be kyagaggawaza, baliyimirira wala olw'okutya okubonaabona kwakyo, ne bakaaba era ne banakuwala, ne bagamba nti: “Zikisanze, zikisanze ekibuga ekyo ekinene, ekyayambalanga engoye eŋŋonvu, eza kakobe n'emmyufu; ne kitimbibwa zaabu n'amayinja ag'omuwendo, n'ago agayitibwa luulu. Kifiiriddwa obugagga obwo bwonna mu ssaawa emu yokka!” Abagoba b'amaato bonna, n'abasaabaze bonna, n'abalunnyanja, na bonna abasuubulira ku nnyanja, baayimirira wala bwe baalaba omukka gwakyo nga kiggya, ne baleekaana nga bagamba nti: “Tewabangawo kibuga ekyenkana kino obunene!” Ne beeyiira enfuufu mu mitwe, ne baleekaana nga bakaaba era nga bakungubaga, nga bagamba nti: “Zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene era ekigagga ennyo, ekyagaggawalirwamu abalina amaato ku nnyanja. Kizikiriziddwa mu ssaawa emu yokka! Ggwe eggulu sanyuka, kubanga kizikiriziddwa! Mmwe abantu ba Katonda, nammwe abatume n'abalanzi, musanyuke, kubanga Katonda akisalidde omusango ne gukisinga, olw'ebyo bye kyakola!” Awo malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja eriri ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'agamba nti: “Babilooni ekibuga ekinene bwe kirisuulibwa bwe kityo wansi n'amaanyi mangi, ne kitaddayo kulabibwa! Ennyimba z'abakubi b'ennanga, n'ez'abayimbi, n'ez'abafuuyi b'endere n'ab'eŋŋombe, tebiriddayo kuwulirwa mu ggwe, tewaliba mugezi mu mulimu na gumu aliddayo kulabika mu ggwe, wadde eddoboozi ly'olubengo okuddayo okuwulirwa mu ggwe. Ekitangaala ky'ettaala tekiriddayo kulabika mu ggwe, wadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole okuddayo okuwulirwa mu ggwe. Abasuubuzi bo baali bakulu nnyo mu nsi, era obulogo bwo bwalimbalimba amawanga gonna!” Mu kyo omusaayi gw'abalanzi, n'ogw'abantu ba Katonda, n'ogwa bonna abattibwa ku nsi, mwe gwasangibwa. Ebyo bwe byaggwa, ne mpulira mu ggulu eddoboozi eriri ng'ery'ekibiina ky'abantu ekinene, nga ligamba nti: “Mutendereze Katonda waffe, kubanga obulokozi, n'ekitiibwa n'obuyinza, bibye! Ky'asalawo kituufu era kya bwenkanya. Asaze omusango, ne gusinga malaaya lukulwe, eyayonoona ensi n'obwamalaaya bwe. Malaaya oyo abonerezeddwa olw'okutta abaweereza ba Katonda.” Era ne bagamba nti: “Mutendereze Katonda! Omukka ogukivaamu gunyooka emirembe n'emirembe!” Abakadde amakumi abiri mu abana, n'ebiramu ebina, ne bavuunama ne basinza Katonda atudde ku ntebe ey'obwakabaka, nga bwe bagamba nti: “Amiina. Mutendereze Katonda!” Era eddoboozi ne liva awali entebe ey'obwakabaka ne ligamba nti: “Mutendereze Katonda waffe mmwe mwenna abaweereza be, nammwe mwenna abato n'abakulu abamussaamu ekitiibwa.” Ate ne mpulira eddoboozi eriri ng'ery'ekibiina ky'abantu ekinene, eriri ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, era ng'okubwatuka kw'eggulu okw'amaanyi, nga ligamba nti: “Mutendereze Katonda, kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinzawaabyonna, ye afuga. Tusanyuke, tujaguze tutendereze ekitiibwa kye, kubanga ekiseera eky'embaga y'obugole ey'Omwana gw'Endiga kituuse. Akkiriziddwa okwambala engoye eŋŋonvu, ezitukula era ezitemagana.” Engoye ezo eŋŋonvu, bye bikolwa ebirungi eby'abantu ba Katonda. Malayika n'aŋŋamba nti: “Wandiika nti: ‘Ba mukisa abayitiddwa ku mbaga ey'obugole ey'Omwana gw'Endiga.’ ” Era n'aŋŋamba nti: “Ebyo bigambo byennyini Katonda bye yayogera.” Awo ne nfukamira kumpi ddala n'ebigere bye okumusinza. Kyokka n'aŋŋamba nti: “Leka! Ekyo tokikola! Ndi muweereza munno, era mpeerereza wamu ne baganda bo abanywerera ku mazima Yesu ge yatumanyisa. Sinza Katonda.” Kubanga amazima Yesu ge yatumanyisa, ge gawa abalanzi bye boogera. Ne ndaba eggulu nga libikkuse, era ne ndaba embalaasi enjeru. Agyebagadde ayitibwa Mwesigwa era ow'amazima. Asala emisango era alwana entalo mu bwenkanya. Amaaso ge gali ng'ennimi z'omuliro, era atikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe. Awandiikiddwako erinnya eritamanyiddwa muntu n'omu, okuggyako ye yekka. Ayambadde ekyambalo ekyannyikibwa mu musaayi. Erinnya lye ye Kigambo wa Katonda. Awo ab'eggye ery'omu ggulu ne bamugoberera, nga beebagadde embalaasi enjeru era nga bambadde engoye eŋŋonvu enjeru era ennyonjo. Mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekyogi eky'okuwangula amawanga. Aligafugisa omuggo ogw'ekyuma, n'alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu obungi obwa Katonda Omuyinzawaabyonna. Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye, alina erinnya eriwandiikiddwako nti: KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W'ABAKAMA. Awo ne ndaba malayika ng'ayimiridde ku njuba. N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka ng'agamba ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga nti: “Mujje, mukuŋŋaane ku mbaga ennene Katonda gy'akoze, mulye emirambo gya bakabaka, n'egy'abakulu b'amagye, n'egy'abaserikale, n'egy'embalaasi, n'egy'abazeebagala, n'egy'abantu bonna abaddu n'ab'eddembe, abakulu n'abato!” Awo ne ndaba ekisolo, ne bakabaka b'oku nsi n'amagye gaabwe, nga bakuŋŋaanye okulwanyisa oyo eyeebagadde embalaasi, n'eggye lye. Ekisolo ne kiwambibwa awamu n'omulanzi ow'obulimba, eyakola ebyewuunyo mu maaso gaakyo. Ebyewuunyo ebyo bye yalimbisanga abakkiriza okuteekebwako akabonero k'ekisolo, era abaasinza ekifaananyi kyakyo. Ekisolo ekyo n'omulanzi ow'obulimba, bombi ne basuulibwa mu nnyanja ey'omuliro ogwaka ennyo. Abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ekyava mu kamwa k'oyo eyeebagadde embalaasi. Ebinyonyi byonna ne byekkutira emirambo gyabwe. Awo ne ndaba malayika ng'akka ng'ava mu ggulu, ng'akutte mu ngalo ze ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma, n'olujegere olunene. N'akwata ogusota, omusota ogwo ogw'edda, ye Mukemi era Sitaani, n'agusiba okumala emyaka lukumi. N'agusuula mu bunnya obutakoma, n'aggalawo, n'ateekako n'envumbo, guleme okuddamu okulimbanga amawanga, okutuusa emyaka olukumi lwe giriggwaako. Egyo bwe giriggwaako, gwa kusumululwa okumala akaseera katono. Awo ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga zituuliddwako abaweereddwa obuyinza okusala emisango. Era ne ndaba emyoyo gy'abo abaatemwako emitwe nga babalanga okunywerera ku Yesu, ne ku kigambo kya Katonda. Be bo abataasinza kisolo, wadde ekifaananyi kyakyo, era abatakkiriza kuteekebwako kabonero kaakyo mu byenyi byabwe, ne ku mikono gyabwe. Abantu abo baddamu okuba abalamu, ne bafugira wamu ne Kristo emyaka lukumi. Abafu abalala tebaddamu kuba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwaako. Okwo kwe kuzuukira okusooka. Ba mukisa era batukuvu abazuukirira mu kuzuukira kuno okusooka. Abo okufa okwokubiri tekubalinaako buyinza, naye balibeera bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye emyaka lukumi. Emyaka egyo olukumi bwe giriggwaako, Sitaani alisumululwa mu kkomera lye. Era aligenda okulimbalimba Googi ne Magogi, ge mawanga agali wonna wonna ku nsi. Alikuŋŋaanya abantu baago okulwana olutalo, nga bangi ng'omusenyu gw'ennyanja. Ne batalaaga ensi yonna, ne bazingiza enkambi y'abantu ba Katonda, n'ekibuga Katonda ky'ayagala. Kyokka omuliro ne gukka nga guva mu ggulu, ne gubookya. Ne Sitaani eyabasendasenda, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro, ogwaka ennyo, eyasuulibwamu ekisolo n'omulanzi ow'obulimba, mwe banaabonyaabonyezebwanga ekiro n'emisana, emirembe n'emirembe. Awo ne ndaba entebe ey'obwakabaka, ennene era enjeru, ne ndaba n'oyo agituddeko. Ensi n'eggulu ne biva mu maaso ge, ne bitaddayo kulabikako. Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe eyo ey'obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa. N'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku bye baakola, nga bwe byawandiikibwa mu bitabo. Ennyanja n'ereeta abafu abagirimu. Okufa n'Amagombe nabyo ne bireeta abafu be birina. Bonna ne basalirwa omusango, ng'ebikolwa byabwe bwe byali. Awo Okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Ennyanja eyo ey'omuliro kwe kufa okwokubiri. Era buli muntu eyasangibwa ng'erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Awo ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya. Eggulu eryasooka n'ensi eyasooka byali biweddewo, n'ennyanja nga tekyaliwo. Ne ndaba Ekibuga Ekitukuvu, Yerusaalemu Ekiggya, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba. Ne mpulira eddoboozi ery'omwanguka nga lyogerera awali entebe ey'obwakabaka, nga ligamba nti: “Laba, kaakano ekisulo kya Katonda kiri mu bantu; anaabeeranga nabo. Baliba bantu be, Katonda yennyini anaabeeranga nabo, nga ye Katonda waabwe. Era alisangula buli zziga mu maaso gaabwe. Waliba tewakyali kufa nga tewakyali kunakuwala, oba okukaaba, wadde obulumi, kubanga olwo eby'edda biriba biweddewo.” Awo oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka n'agamba nti: “Kati ebintu byonna mbizza buggya.” Era n'agamba nti: “Wandiika ebigambo bino, kubanga bituufu, era byesigibwa.” Ate n'aŋŋamba nti: “Ebintu bino byonna kati bituukiridde! Nze Alufa ne Omega, entandikwa n'enkomerero. Buli alina ennyonta, ndimuwa buwa amazzi ag'omu luzzi olw'obulamu n'anywa. “Buli awangula, alifuna ebyo. Ndiba Katonda we, ye n'aba mwana wange. Kyokka abati, n'abatakkiriza, n'aboonoonefu, n'abatemu, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abalimba bonna, omugabo gwabwe guliba mu nnyanja ey'omuliro ogwaka ennyo, kwe kufa okwokubiri.” Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, ebijjudde ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero, n'ajja n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Jjangu nkulage Omugole, muk'Omwana gw'Endiga.” Awo Mwoyo n'anjijako, malayika n'antwala ku lusozi olunene era oluwanvu, n'andaga Yerusaalemu ekibuga ekitukuvu, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda. Okumasamasa kwakyo nga kuli ng'okw'ejjinja ery'omuwendo ennyo eriyitibwa yasipero, eritangalijja. Kyaliko ekisenge ekikyetoolodde era ekiwanvu, nga kiriko emiryango kkumi n'ebiri, egiriko bamalayika kkumi na babiri, era nga giwandiikiddwako amannya g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'Abayisirayeli. Ebuvanjuba kyaliko emiryango esatu, mu bukiikakkono emiryango esatu, mu bukiikaddyo emiryango esatu, n'ebugwanjuba emiryango esatu. Ekisenge ekyetoolodde ekibuga kyalina emisingi kkumi n'ebiri, nga giriko amannya g'abatume ekkumi n'ababiri, ab'Omwana gw'Endiga. Malayika eyayogera nange yalina omuggo ogwa zaabu nga gwa kupima ekibuga, n'emiryango gyakyo, n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde. Enjuyi z'ekibuga ekyo ennya zaali zenkana: ng'obuwanvu bwakyo bwenkana n'obugazi bwakyo. Awo malayika n'apima ekibuga ekyo n'omuggo gwe, ne kiweza kilomita ng'enkumi bbiri mu bina, obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo nga bwenkanankana. Era n'apima n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde, ne kiweza mita nga nkaaga obugulumivu. Ekipimo ekikozesebwa abantu, malayika kye yapimisa. Ekisenge ekyo ekyetoolodde ekibuga, kyali kizimbiddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga yasipero. Kyo ekibuga nga kya zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli. Emisingi gy'ekisenge ekyetoolodde ekibuga gyali giyooyooteddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n'amayinja aga yasipero, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kaludeedoni, ogwokuna aga simaragido, ogwokutaano aga sandonikisi, ogw'omukaaga aga sarudiyo, ogw'omusanvu aga kirisolito, ogw'omunaana aga berulo, ogw'omwenda aga topazi, ogw'ekkumi aga kirusopuraso, ogw'ekkumi n'ogumu aga yakinto, ogw'ekkumi n'ebiri aga ametisto. Ate emiryango ekkumi n'ebiri, gyali amayinja ag'omuwendo ennyo aga luulu kkumi n'abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n'ejjinja lya luulu limu. Enguudo z'ekibuga ekyo nga zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli. Mu kibuga ekyo ssaalabamu Ssinzizo, kubanga Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna era n'Omwana gw'Endiga, bo ye Ssinzizo mu kyo. Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba, wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw'Endiga ye ttaala yaakyo. Abantu b'omu nsi yonna banaatambuliranga mu kitangaala kyakyo, ne bakabaka b'oku nsi ne baleeta ebyobugagga byabwe mu kyo. Olunaku lwonna emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono, kubanga eyo teriba kiro. Ekitiibwa n'ebyobugagga eby'amawanga, birireetebwa mu kyo. Naye tekiriyingirwamu kintu na kimu ekitali kirongoofu, wadde omuntu n'omu akola eby'ensonyi, oba alimba. Wabula abo bokka abaawandiikibwa mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga, be baliyingira mu kibuga ekyo. Awo malayika n'andaga omugga gw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, oguva ku ntebe ey'obwakabaka eya Katonda era ey'Omwana gw'Endiga, ne gukulukutira wakati w'enguudo z'ekibuga ekyo. Eruuyi n'eruuyi w'omugga ogwo, waaliwo omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala emirundi kkumi n'ebiri omwaka, nga gubala buli mwezi; amakoola gaagwo nga ga kuwonya amawanga. Eyo teribaayo nate kikolimo. Entebe ey'obwakabaka eya Katonda era ey'Omwana gw'Endiga, eneebeeranga omwo, era abaweereza ba Katonda banaamusinzanga. Banaalabanga amaaso ge, era erinnya lye linaabeeranga mu byenyi byabwe. Ekiro tekiriddayo kubaawo, era tebalyetaaga kitangaala kya ttaala, wadde eky'enjuba, kubanga Mukama Katonda ye anaabeeranga ekitangaala kyabwe, era banaafuganga emirembe n'emirembe. Awo malayika n'aŋŋamba nti: “Ebigambo bino bituufu ddala, era bya mazima. Era Mukama Katonda awa abalanzi Mwoyo we, atumye malayika we, okulaga abaweereza be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.” “Laba, njija mangu. Wa mukisa oyo akwata ebigambo eby'obulanzi ebiri mu kitabo kino.” Nze Yowanne, nze nawulira era ne ndaba bino. Bwe namala okubiwulira n'okubiraba, ne nvuunama okumpi n'ebigere bya malayika eyandaga bino. Ye n'aŋŋamba nti: “Leka! Ekyo tokikola! Ndi muweereza munno, era mpeerereza wamu ne baganda bo abalanzi era n'abo abakwata ebigambo ebiri mu kitabo kino. Sinza Katonda.” Era n'aŋŋamba nti: “Ebigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino tobikuuma mu kyama, kubanga ekiseera kiri kumpi, bibeewo. Naye nga tebinnabaawo, omwonoonyi k'ayongere okwonoona, omugwagwa asigale nga mugwagwa, akola ebituufu ayongere okukola ebituufu, n'omutuukirivu asigale nga mutuukirivu.” “Laba, njija mangu. Ndijja n'empeera nsasule buli omu, nga nsinziira ku bye yakola. Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye, era asembayo: entandikwa n'enkomerero.” Ba mukisa abo abooza ebyambalo byabwe, balyoke bakkirizibwe ku muti ogw'obulamu, era bayingire mu kibuga, nga bayita mu miryango. Naye abo aboonoonefu, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi b'abantu, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abo bonna abaagala era abakola eby'obulimba, balibeera bweru. “Nze Yesu, ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ab'omu bibiina by'abakkiriza mu nze. Ndi muzzukulu wa Dawudi, era nsibuka mu ye. Nze mmunyeenye ey'oku makya, eyakaayakana.” Mwoyo n'Omugole bagamba nti: “Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Era buli awulira bino agambe nti: “Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Buli alumwa ennyonta ajje, era buli ayagala amazzi agawa obulamu, akkirize okugafuna awatali kusasula. Ntegeeza buli awulira ebigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino nti: alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Era buli alikendeeza ku bigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino, Katonda alimuggyako omugabo gwe ogw'ebibala by'omuti oguwa obulamu, n'ogw'omu kibuga ekitukuvu, ebyogerwako mu kitabo kino. Akakasa bino, agamba nti: “Weewaawo, njija mangu.” Ka kibe bwe kityo. Jjangu Mukama waffe Yesu. Mukama waffe Yesu akwatirwe ekisa abantu ba Katonda bonna. Amiina.