Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi. Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n'Omwoyo gwa Katonda nga guseeyeeya ku ngulu ku mazzi. Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala. Katonda n'alaba ng'ekitangaala kyali kirungi; Katonda n'ayawula ekitangaala ku kizikiza. Katonda ekitangaala n'akiyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwolubereberye. Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ebbanga wakati mu mazzi, lyawule amazzi n'amazzi.” Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga; era ne kiba bwe kityo. Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri. Katonda n'ayogera nti, “Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Era ne kiba bwe kityo. Katonda olukalu n'aluyita ensi, n'ekkuŋŋaaniro ly'amazzi n'aliyita ennyanja. Katonda n'alaba nga birungi. Katonda n'ayogera nti, “Ensi emere ebimera: ebimera ebizaala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebya buli ngeri ku nsi egizaala ebibala ebirimu ensigo.” Era ne kiba bwe kityo. Ensi n'emera ebimera, ebimera ebizaala ensigo eza buli ngeri, n'emiti egya buli ngeri egizaala ebibala ebirimu ensigo. Katonda n'alaba nga kyali kirungi. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokusatu. Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era bireteewo obubonero n'ebiro n'ennaku n'emyaka; era bibe ebyaka mu bbanga ery'eggulu, okuwa ekitangaala ku nsi.” Era ne kiba bwe kityo. Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene; ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro, era n'akola n'emmunyeenye. Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi, bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga ekitangaala n'ekizikiza. Katonda n'alaba nga kyali kirungi. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokuna. Katonda n'ayogera nti, “Amazzi gazaale ebitonde ebiramu bingi nnyo, era n'ebinyonyi bibuuke waggulu ku nsi mu bbanga.” Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli kitonde ekiramu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaakyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo. Katonda n'alaba nga kyali kirungi. Katonda n'abiwa omukisa n'ayogera nti, “Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebinyonyi byeyongere mu nsi.” Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokutaano. Katonda n'ayogera nti, “Ensi ereete ebirina obulamu ebya buli ngeri: ente n'ebyewalula, n'ensolo ez'omu nsiko eza buli ngeri.” Era ne kiba bwe kityo. Katonda n'akola ensolo ez'omu nsiko eza buli ngeri, n'ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku nsi ekya buli ngeri. Katonda n'alaba nga kyali kirungi. Awo Katonda n'ayogera nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe, mu ngeri yaffe, afugenga eby'omu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ente, n'ensolo ez'omu nsiko, na buli ekyewalula ku nsi.” Bw'atyo Katonda n'atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yabatondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda. Katonda n'abawa omukisa, era Katonda n'abagamba nti, “Mweyongerenga mwalenga, mujjuze ensi mugifuge; mufugenga eby'omu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” Katonda n'ayogera nti, “Laba, mbawadde buli kimera eky'ensigo ekiri ku nsi, na buli muti ogubala ekibala ekirimu ensigo, binaabanga mmere yammwe. N'eri buli nsolo ey'oku nsi, na buli kinyonyi eky'omu bbanga, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, mbiwadde buli kimera okuba emmere.” Era ne kiba bwe kityo. Katonda n'alaba buli kye yali akoze; era, laba, nga kyali kirungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga. Bwe bityo eggulu n'ensi, n'ebirimu byonna, ne biggwa okukola. Ku lu nnaku olwomusanvu Katonda n'amala emirimu gyonna gye yakola, n'awummulira ku lunaku olwomusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola. Katonda n'awa omukisa olunaku olwomusanvu n'alutukuza, kubanga olwo lwe yawummulirako emirimu gye gyonna gye yakola. Bino by'ebifa ku ggulu n'ensi nga bwe byatondebwa. Ku lunaku Mukama Katonda kwe yakolera ensi n'eggulu, waali tewannamera muti gwonna ogw'omu nsiko wadde omuddo, kubanga Mukama Katonda yali tannaba kutonnyesa nkuba ku nsi; era nga tewali muntu alima ensi. Naye amazzi gaavanga mu ttaka, ne gannyikiza ensi. Mukama Katonda n'abumba omuntu n'enfuufu ey'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'alyoka abeera omulamu. Mukama Katonda n'asimba olusuku mu Edeni, ku luuyi olw'ebuvanjuba; n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba. Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya. Wakati mu lusuku mwalimu omuti ogw'obulamu, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi. Omugga ne gusibuka mu Edeni okufukiriranga amazzi mu lusuku; ne gweyawulamu ne gufuuka emigga ena. Ogwolubereberye erinnya lyagwo Pisoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavira, erimu zaabu; ne zaabu ey'omu nsi eyo nnungi; mulimu bedola n'amayinja aga sokamu. Ogwokubiri erinnya lyagwo Gikoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kkuusi. Ogwokusatu nga guyitibwa Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'ogwokuna nga guyitibwa Fulaati. Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu lusuku Edeni alulimenga, alulabirirenga. Mukama Katonda n'alagira omuntu n'amugamba nti, “Buli muti ogw'omu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga; naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako, kubanga olunaku lw'oligulyako lw'olifa.” Awo Mukama Katonda n'ayogera nti, “Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; nnaamukolera omubeezi amusaanira.” Mukama Katonda n'addira ettaka n'akolamu buli nsolo ey'omu nsiko, na buli kinnyonyi ekibuuka mu bbanga; n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita; n'omuntu buli linnya lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye lyafuuka erinnya lyakyo. Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira. Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo. Mukama Katonda n'akola omukazi mu lubiriizi lw'aggye mu muntu, n'amuleeta eri omuntu. Omuntu n'ayogera nti, “Otyo! Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange; naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja.” N'olwekyo, omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu. Bombi baali bwereere, omusajja ne mukazi we, naye tebaakwatibwa nsonyi. N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, Mukama Katonda ze yakola. Ne gugamba omukazi nti, “Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti, ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?’” Omukazi n'agamba omusota nti, “Tuyinza okulya ku bibala eby'emiti egy'omu lusuku; naye Katonda yagamba nti, ‘temulyanga ku bibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, newakubadde okugukwatangako muleme okufa.’” Omusota ne gugamba omukazi nti, “Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi.” Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne bba naye n'alya. Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne bategeera nga baali bwereere; ne batunga amakoola g'emiti ne beekolera eby'okwambala. Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'akawungeezi, omusajja ne mukazi we ne beekweka wakati mu miti egy'omu lusuku, Mukama Katonda aleme okubalaba. Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba nti, “Oli ludda wa?” N'addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.” N'amubuuza nti, “Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako?” Omusajja n'addamu nti, “Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku kibala eky'oku muti, ne ndya.” Mukama Katonda n'agamba omukazi nti, “Kiki kino ky'okoze?” Omukazi n'ayogera nti, “Omusota gunsenzesenze, ne ndya.” Mukama Katonda n'agamba omusota nti, “Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo zonna ezifugibwa awaka, n'ez'omu nsiko. Oneekululiranga ku lubuto, era onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo; nange n'ateeka obulabe wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi; alikubetenta omutwe gwo, naawe olibetenta ekisinziiro kye.” N'agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo obulumi bwo mu kuzaala abaana; mu bulumi mwonoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri balo, naye anaakufuganga.” N'agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti, ‘Togulyangako,’ ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga eby'okulya ennaku zonna ez'obulamu bwo; amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro. Mu ntuuyo ez'omu maaso go mwonooliiranga emmere, okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggyibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.” Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu. Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza. Mukama Katonda n'ayogera nti, “Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe.” Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Edeni, alimenga ettaka mwe yaggyibwa. Bw'atyo n'agoba omuntu; n'ateeka bakerubi ebuvanjuba w'olusuku Edeni, era n'ekitala ekimyansa, ekikyukakyuka, okukuumanga ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu. Adamu ne yeegatta ne Kaawa mukazi we; Kaawa n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti, “Mpeereddwa omusajja okuva eri Mukama.” Era nate n'azaala muganda we Abeeri. Abeeri n'aba mulunzi wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi. Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'aleeta ku bibala bye yakungula okubiwaayo eri Katonda. Abeeri naye n'aleeta ku baana b'endiga ze ababereberye, n'azitta n'awaayo ebitundu byazo ebisinga obusava. Mukama n'asiima Abeeri ne ky'awaddeyo: naye Mukama n'atasiima Kayini ne ky'awaddeyo. Kayini n'asunguwala nnyo, n'atunula bubi. Mukama n'agamba Kayini nti, “Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikutunuza obubi bw'otyo? Singa okoze ekintu ekirungi, tewandisiimiddwa? Naye kubanga okoze bubi, ekibi kiri ku luggi lwo; kyagala okukufuga, naye ggwe oteekwa okukiwangula.” Kayini n'ayogera ne Abeeri muganda we n'amugamba nti, “Tugende mu nnimiro.” Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abeeri muganda we n'amutta. Mukama n'abuuza Kayini nti, “Aluwa Abeeri muganda wo?” N'addamu nti, “Simanyi; nze mukuumi wa muganda wange?” Mukama n'amugamba nti, “Okoze ki? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka. Kale kaakano okolimiddwa, kubanga osse mugandawo, era ensi eyasamizza akamwa kaayo n'ennywa omusaayi gwe. Okuva kaakano bw'on'olimanga ettaka, teribazenga mmere, era onoobanga mmomboze era omutambuze mu nsi.” Kayini n'agamba Mukama nti, “Ekibonerezo ky'ompadde kisusse obunene, siyinza kukigumira. Laba, ongobye mu maaso go, sikyalina bukuumi bwo, nfuuse mmomboze era omutambuze mu nsi; na buli anandabanga ananzitanga bussi.” Mukama n'amugamba nti, “Buli alitta Kayini aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero, buli anaamulabanga alemenga okumutta. Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi eyitibwa Nodi, mu buvanjuba bwa Edeni. Kayini ne yeegatta ne mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka. Kayini n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we. Enoka n'azaala Iradi; Iradi n'azaala Mekuyaeri, Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri, Mesusaeri n'azaala Lameka. Lameka n'awasa abakazi babiri; owolubereberye erinnya lye Ada, n'owokubiri erinnya lye Zira. Ada n'azaala Yabali; oyo ye jjajja w'abalunzi ababeera mu weema. Muganda we ye Yubali; oyo ye jjajja w'abo bonna abakuba ennanga n'abafuuyi b'endere. Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma; ne mwannyina Tubalukayini ye Naama. Lameka n'agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange; Kubanga n'atta omusajja kubanga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze. Oba nga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.” Adamu ne yeegatta ne mukazi we nate; n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Seezi; eritegeeza nti, “Katonda ampadde omwana omulala okudda mu kifo kya Abeeri, Kayini gwe yatta.” Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi; mu kiseera ekyo abantu mwe batandikira okukoowoola erinnya lya Mukama. Kino kye kitabo ky'olunnyiriri lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukolera mu kifaananyi kya Katonda. Ya batonda omusajja n'omukazi; n'abawa omukisa. Bwe yabatonda n'abayita omuntu. Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu (130), n'azaala omwana ow'obulenzi amufaananira ddala mu byonna; n'amutuuma erinnya lye Seezi. Adamu yawangaala emyaka emirala lunaana (800) ng'amaze okuzaala Seezi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala; Adamu n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu asatu (930). Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano (105), n'azaala Enosi. Seezi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu (807) ng'amaze okuzaala Enosi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala; Seezi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri (912). Enosi bwe yaweza emyaka kyenda (90), n'azaala Kenani. Enosi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n'etaano (815) ng'amaze okuzaala Kenani. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Enosi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu etaano (905). Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu (70) n'azaala Makalaleri. Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana (840). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Kenani n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi (910). Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano (65) n'azaala Yaledi. Makalaleri n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu (830) ng'amaze okuzaala Yaledi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Makalaleri n'afa ng'awezezza emyaka lunaana mu kyenda mu etaano (895). Yaledi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri (162) n'azaala Enoka. Yaledi n'awangaala emyaka emirala lunaana (800) ng'amaze okuzaala Enoka. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Yaledi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri (962). Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano (65), n'azaala Mesuseera. Enoka bwe yamala okuzaala Mesuseera n'awangaala emyaka emirala bisatu (300), ng'atambulira wamu ne Katonda. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Enoka yawangaala emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano (365). Enoka n'atambulira wamu ne Katonda, so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala. Mesuseera bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu (187) n'azaala Lameka. Mesuseera n'awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri (782). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Mesuseera n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda (969). Lameka bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri (182), n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti, “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe mu nsi Mukama gye yakolimira.” Lameka n'awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano (595). Yazaala n'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Lameka n'afa ng'awezezza emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu (777). Nuuwa nga awezeza emyaka bitaano (500), n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. Awo abantu bwe beeyongera obungi ku nsi, nga bazadde n'abaana ab'obuwala, abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga mu bo bonna be baayagala. Mukama n'ayogera nti, “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri, naye anaawangaalanga emyaka egitasukka kikumi mu abiri (120). ” Mu biro ebyo, waaliwo Abanefiri mu nsi, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu, abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda. Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n'anakuwala mu mutima gwe. Mukama n'ayogera nti, “Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; nejjusizza kubanga nabikola.” Naye Nuuwa n'alaba ekisa mu maaso ga Mukama. Gino gy'emirembe gya Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye; Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda. Nuuwa yalina abaana basatu: Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n'ejjula eddalu. Katonda n'alaba ensi, ng'eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi. Katonda n'agamba Nuuwa nti, “Maliridde okusaanyawo buli ekirina omubiri, kubanga nsi ejjudde obwonoonefu bwabyo, n'olw'ekyo nja kubizikiririza wamu n'ensi. Weekolere eryato mu muti ogwa goferi; olisalemu ebisenge, olisiige envumbo munda ne kungulu. Likole nga lya mikono bisatu (300) obuwanvu, emikono ataano (50) obugazi, n'emikono asatu (30) obugulumivu. Likole nga lya myaliiro esatu, oteekeko eddirisa, ng'oleseeyo omukono gumu okuva waggulu waalyo, era oliteekeko omulyango mu mbiriizi zaalyo. Laba, ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa. Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe, n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo. Oliyingiza mu lyato ku buli kiramu ekirina omubiri, bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, mu ngeri yaabyo, biryoke biwonere wamu naawe. Oliyingiza buli ngeri y'ebibuuka, ensolo n'ebyewalula, bibiri bibiri bireme okufa. Naawe weetwalire emmere yonna eriibwa abantu, n'ey'ebitonde ebirala byonna ebirina obulamu ebiri naawe.” Nuuwa n'akola byonna Katonda bye yamulagira okukola. Mukama n'agamba Nuuwa nti, “Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mulembe guno. Ku buli nsolo nnongoofu, twalako musanvu musanvu, ensajja n'enkazi. Naye ku zitali nnongoofu, twalako bbiri, ensajja n'enkazi yaayo; Era ne ku bibuuka waggulu, twalako musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi; ekika kyabyo kireme okuzikirira okuva ku nsi, kubanga oluvannyuma lw'ennaku omusanvu nditonnyesa enkuba ku nsi okumala ennaku ana (40), emisana n'ekiro; era ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva ku nsi.” Nuuwa n'akola byonna nga Katonda bwe yamulagira. Nuuwa yalina emyaka lukaaga (600), amataba we gajjira ku nsi. Nuuwa n'ayingira mu lyato ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi b'abaana be, okuwona amataba. Ku buli kika kya nsolo ennongoofu n'ezitali nnongoofu, ne ku buli kika ky'ebibuuka mu bbanga, n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira ne Nuuwa mu lyato, bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, nga Katonda bwe yalagira Nuuwa. Bwe waayitawo ennaku musanvu, amataba ne gajja ku nsi. Mu mwaka ogwolukaaga (600) ogw'obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu (17), ensulo zonna ez'omu nnyanja ennene ne zizibukuka. Enkuba n'etonnya ku nsi okumala ennaku ana (40), emisana n'ekiro. Ku lunaku olwo Nuuwa ne mukazi we, n'abaana baabwe: Seemu, Kaamu ne Yafeesi ne bakazi baabwe, ne bayingira mu lyato. Buli kika kya nsolo entono n'ennene, enfuge n'ez'omu nsiko, na buli kika ky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira nabo mu lyato. Ne biyingira ne Nuuwa mu lyato, bibiri bibiri ku buli ekirina omukka ogw'obulamu. Ebiramu ebyayingira ne Nuuwa byali ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yamulagira; Mukama n'amuggalira munda. Amataba ne gabeera ku nsi ennaku ana (40); amazzi ne geeyongera obungi ne gasitula eryato okuva ku ttaka. Amazzi ne geeyongera nnyo ku nsi, ne gabuna wonna, eryato ne liseeyeeya ku ngulu ku mazzi. Amazzi ne gatumbiira nnyo ku nsi; ne gabuutikira ensozi zonna ezaali zisingira ddala obugulumivu. Amazzi ne gatumbiira emikono kkumi n'etaano (15) okusukka ku ntikko z'ensozi. Ebiramu byonna ku nsi, omuli ensolo enfuge n'ez'omu nsiko n'ebibuuka mu bbanga, n'abantu bonna, ne bifa. Buli kintu ku nsi ekyalimu omukka ogw'obulamu ne kifa. Mukama n'asangula buli kiramu kyonna ku nsi: abantu, n'ensolo n'ebyewalula ku ttaka, n'ebibuuka mu bbanga. Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato. Amazzi ne gasigala nga gatumbidde ku nsi okumala ennaku kikumi mu ataano (150). Katonda n'ajjukira Nuuwa, n'ensolo, na buli kiramu, ekyali awamu naye mu lyato. Katonda n'akunsa empewo ku nsi, amazzi ne gatandika okukendeera. Ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omu ggulu ne biggalirwa. Enkuba n'erekera awo okutonnya, amazzi ne gagenda nga gakendeera mpolampola, okumala ennaku kikumi mu ataano (150) Ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu, olw'omwezi ogw'omusanvu, eryato ne lituula ku nsozi za Alalati. Amazzi ne geeyongera okukendeera obutayosa. Ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi, entikko z'ensozi ne zirabika. Awo oluvannyuma lw'ennaku ana (40), Nuuwa n'aggulawo eddirisa ery'eryato lye yakola, n'atuma nnamuŋŋoona n'afuluma, n'addiŋŋananga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi. N'atuma ejjiba alabe ng'amazzi gakendedde ku nsi; naye ejjiba teryalaba kifo wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy'ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali mangi ku nsi yonna. N'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mu lyato. N'alindako ennaku endala musanvu, n'alyoka atuma nate ejjiba okuva mu lyato. Ejjiba ne likomawo olw'eggulo nga lirina akakoola akabisi ak'omuzeeyituuni mu kamwa kaalyo. Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gakendedde ku nsi. N'alindako ennaku endala musanvu, n'addamu okutuma ejjiba; ku olwo neritakomawo gy'ali. Mu mwaka lukaaga mu gumu (601) ogwa Nuuwa, ku lunaku olwolubereberye, olw'omwezi ogwolubereberye, amazzi ne gakalira ku nsi. Nuuwa n'aggyako ekisaanikira ky'eryato, n'atunula, n'alaba ng'amazzi gakalidde ku nsi. Ku lunaku olw'abiri mu omusanvu olw'omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde ddala. Katonda n'agamba Nuuwa nti, “Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n'abaana bo, n'abakazi b'abaana bo. Fulumya ebiramu byonna ebiri naawe mu lyato mu ngeri yabyo: ebibuuka waggulu, ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, n'eby'ewalula ku nsi.” Nuuwa n'afuluma, ne mukazi we, n'abaana be n'abakazi baabwe. Buli nsolo, na buli ekyewalula ku ttaka, na buli ekibuuka mu bbanga, ne bifuluma mu lyato mu ngeri zaabyo. Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto. Mukama n'asanyuka olw'evvumbe eddungi; n'ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddamu nate kukolimira nsi olw'ebikolwa by'omuntu; kubanga ebirowoozo by'omutima gwe bibi okuviira ddala mu buto bwe. Era sikyazikiriza nate buli kiramu nga bwe nkoze. Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, empewo n'ebbugumu, ekyeya ne ttoggo, emisana n'ekiro tebiggwengawo.” Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti, “Mwalenga mweyongerenga, mujjuze ensi. Ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga na buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja, binaabatyanga. Binaabanga mu buyinza bwammwe. Nga bwe n'abawa ebimera okuba emmere, era mbawadde na buli kiramu ekitambula okuba emmere gye muli; buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli. Naye ennyama ekyalimu omusaayi temugiryanga kubanga obulamu buli mu musaayi, temugiryanga. Siiremenga kuzikiriza muntu oba ensolo esaanyawo obulamu bw'omuntu. Buli anattanga omuntu naye anattibwanga, kubanga omuntu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Naye mmwe muzaale nnyo, mweyongerenga, mujjuze ensi.” Katonda n'agamba Nuuwa n'abaana be nti, “Kaakano nkola endagaano nammwe era n'ezadde lyammwe erinaddangawo; era na buli kiramu ekiri awamu nammwe: ennyonyi ez'omubbanga, ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, ne byonna ebivudde mu lyato. Nange nkola nammwe endagaano; sikyaddayo kuzikiriza biramu byonna na mataba; amataba tegakyaddamu kuzikiriza nsi nate mulundi gwa kubiri.” Katonda era n'agamba nti, “Kano ke kabonero ak'endagaano ey'emirembe n'emirembe, gye nkoze nammwe era na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe: ntadde musoke ku bire, abeerenga akabonero ak'endagaano gye nkoze n'ensi. Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetanga ebire ku ggulu, musoke n'alabika, najjukiranga endagaano gye nkoze nammwe na buli kiramu kyonna ekirina omubiri; amataba tegaliddamu kuzikiriza biramu byonna ku nsi. Musoke bw'anaalabikanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano ey'emirembe n'emirembe, nze Katonda gye nkoze n'ebitonde byonna ebiramu ebiri ku nsi.” Katonda n'agamba Nuuwa nti, “Ako ke kabonero ak'endagaano gye nkoze n'ebiramu byonna ebiri ku nsi.” Abaana ba Nuuwa abaava mu lyato be bano: Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. Kaamu ye yazaala Kanani. Abo bonsatule Nuuwa be yazaala; n'abaana baabwe be baazaala, be baabuna ensi. Nuuwa n'atandika okuba omulimi, n'asimba olusuku olw'emizabbibu; n'anywa ku mwenge gwalwo ng'ali mu weema ye, bwe yatamiira n'agalamira ng'ali bukunya. Kaamu, kitaawe wa Kanani, bwe yalaba ensonyi za kitaawe, n'agenda n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. Seemu ne Yafeesi ne batoola ekyambalo, ne bakiteeka ku bibegabega byabwe bombi, ne batambula eky'ennyumannyuma, ne babikka ku nsonyi za kitaabwe; era amaaso gaabwe ne gatalaba ku nsonyi za kitaabwe. Nuuwa omwenge bwe gwamwamukako, n'amanya omwana we omuto kye yamukola, N'ayogera nti, “Kanani akolimirwe; Anaabanga muddu w'abaddu eri baganda be.” Era yayogera nti, “Mukama yeebazibwe, Katonda wa Seemu; Era Kanani abeerenga muddu we. Katonda agaziye Yafeesi, Era atuulenga mu weema za Seemu; Era Kanani abeerenga muddu we.” Nuuwa n'awangaala emyaka bisatu mu ataano (350), amataba nga gamaze okubaawo. Nuuwa n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu ataano (950). Bano be bazzukulu ba Nuuwa, batabani be Seemu, Kaamu ne Yafeesi be baazaala, amataba nga gamaze okubaawo. Abaana ba Yafeesi be bano: Gomeri, Magogi, Madayi, Yivani, Tubali, Meseki, ne Tirasi. Abaana ba Gomeri be bano: Asukenaazi, Lifasi, ne Togaluma. Abaana ba Yavani be bano: Erisa, Talusiisi, Kitimu, ne Dodanimu. Abo be baasibukamu abantu abali ku lubalama lw'ennyanja, ne ku bizinga. Abo be bazzukulu ba Yafeesi, nga bwe bali mu bika byabwe, ne mu mawanga gaabwe, era ne mu nnimi zaabwe ze boogera. Abaana ba Kaamu be bano: Kuusi, Mizulayimu, Puuti, ne Kanani. Abaana ba Kuusi be bano: Seeba, Kavira, Sabuta, Laama, ne Sabuteka. Abaana ba Laama ye Seeba ne Dedani. Kuusi n'azaala Nimuloodi; eyali omusajja ow'amaanyi mu nsi. Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama; kye kyavanga kyogerwa nti, “Mukama akufuule muyizzi ow'amaanyi nga Nimuloodi.” Mu kusooka, obwakabaka bwe bwali buzingiramu Baberi, Ereki, Akudi, ne Kalune; byonna eby'omu nsi Sinali. N'ava mu nsi omwo n'agenda mu Bwasuli, n'azimba Nineeve, Lekobosiyira, Kala, ne Leseni ekiri wakati wa Nineeve ne Kala, ekibuga ekinene. Abaana ba Mizulayimu be bano: Ludimu, Anamimu, Lekabimu, ne Nafutukimu, Pasulusimu ne Kasulukimu, omwava Abafirisuuti, ne Kafutolimu. Abaana ba Kanani be bano: Zidoni omubereberye we, ne Keesi. Kanani era y'asibukamu bano: Abayebusi, Abamoli, Abagirugaasi, Abakiivi, Abamwaluki, Abasiini; Abaluvada, Abazemali, n'Abakamasi. Awo ebika by'Abakanani we byava okubuna. N'ensalo z'ensi y'Abakanani yava e Zidoni okwolekera Gerali, okutuuka e Gaza; era n'etuuka n'e Lasa, okwolekera Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu. Abo be baana ba Kaamu, mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera. Ne Seemu, mukulu wa Yafeesi, era jjajja w'abaana ba Eberi, n'azaala abaana. Abaana ba Seemu be bano: Eramu, Asuli, Alupakusaadi, Ludi, ne Alamu. Abaana ba Alamu be bano: Uzi, Kuuli, Ggeseri, ne Masi. Alupakusaadi n'azaala Seera; Seera n'azaala Eberi. Eberi yalina abaana babiri, omu nga ye Peregi, kubanga mu mulembe gwe ensi mwe zaayawulibwamu, omulala nga ye Yokutaani. Yokutaani yazaala Alumodaadi ne Serefu, Kazalumaveesi, Yera; Kadolaamu, Uzali, Dikula; Obali, Abimayeeri, Seeba; Ofiri, Kavira, ne Yobabu. Abo bonna be baana ba Yokutaani. Ensi mwe baatuulanga yavanga ku Mesa, n'etuuka ku Serali, olusozi olw'ebuvanjuba. Abo be baana ba Seemu, mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera. Ebyo bye bika eby'abaana ba Nuuwa, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe; era mu abo amawanga mwe gaava okusaasaanira mu nsi amataba nga gamaze okubaawo. Abantu ab'omu nsi yonna baalina olulimi lumu n'enjogera emu. Awo, bwe baali batambula nga bava ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi ya Sinali; ne batuula omwo. Ne bagambagana nti, “Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala.” Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebbumba mu kifo ky'ennoni. Ne bagamba nti, “Kale nno, twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka mu ggulu, twekolere erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.” Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abaana b'abantu bye bazimba. Mukama n'ayogera nti, “Laba, abantu bano lye ggwanga limu, bonna balina olulimi lumu; kino kye baagala era kye batandise okukola tekijja kubalema. Kale nno, tukke, tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeragana.” Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna; ne balekera awo okuzimba ekibuga. Erinnya ly'ekibuga kye lyava liyitibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna; n'okuva awo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna. Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu bwe yaweza emyaka kikumi (100), amataba nga gamaze emyaka ebiri (2) okubaawo, n'azaala Alupakusaadi. Seemu bwe yamala okuzaala Alupakusaadi, n'awangaala emyaka emirala bitaano (500), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano (35), n'azaala Seera; Bwe yamala okuzaala Seera, n'awangaala emyaka emirala bina mu esatu (403), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Seera bwe yaweza emyaka asatu (30) n'azaala Eberi. Seera bwe yamala okuzaala Eberi, n'awangaala emyaka emirala bina mu esatu (403), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Eberi bwe yaweza emyaka asatu mu ena (34) n'azaala Peregi. Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n'awangaala emyaka emirala bina mu asatu (430), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Peregi bwe yaweza emyaka asatu (30) n'azaala Leewo. Peregi bwe yamala okuzaala Leewo, n'awangaala emyaka emirala bibiri mu mwenda (209), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Leewo bwe yaweza emyaka asatu mu ebiri (32), n'azaala Serugi. Leewo bwe yamala okuzaala Serugi n'awangaala emyaka emirala bibiri mu musanvu (207), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Serugi bwe yaweza emyaka asatu (30), n'azaala Nakoli. Serugi bwe yamala okuzaala Nakoli n'awangaala emyaka emirala bibiri (200), era mwe yazaalira abaana abalala, ab'obulenzi n'ab'obuwala. Nakoli bwe yaweza emyaka abiri mu mwenda (29) n'azaala Teera. Nakoli bwe yamala okuzaala Teera n'awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda (119), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. Teera bwe yaweza emyaka nsanvu (70), n'azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalani. Kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti. Kalani n'afiira mu kibuga Uli, mu nsi y'Abakaludaaya mwe yazaalirwa nga kitaawe akyali mulamu. Ibulaamu n'awasa Salaayi, ne Nakoli n'awasa Mirika, muwala wa Kalani, era nga ye kitaawe wa Isika. Salaayi yali mugumba; teyalina mwana. Teera n'atwala mutabani we Ibulaamu, ne Lutti, muzzukulu we, omwana wa Kalani, ne Salaayi muka mwana we Ibulaamu; ne basenguka okuva mu kibuga Uli, mu ensi ey'Abakaludaaya, ne bagenda mu nsi eya Kanani, ne basenga e Kalani. Teera n'afiira mu Kalani, ng'awangadde emyaka bibiri mu etaano (205). Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti, “Va mu nsi yo ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga. Ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe; nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.” Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye; Ibulaamu yali awezezza emyaka nsanvu mu etaano (75) bwe yava mu Kalani. Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza, n'abaddu be baafunira mu Kalani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani. Ibulaamu n'ayita mu nsi eyo n'atuuka e Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanani yali akyali mu nsi mu biro ebyo. Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti, “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” N'azimbira Mukama eyamulabikira ekyoto. N'avaayo n'agenda awali olusozi, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Beseri, n'asimba eweema ye, e Beseri nga kiri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne Ayi ku luuyi olw'ebuvanjuba. Ibulaamu n'azimba ekyoto, n'akoowoola erinnya lya Mukama. Ibulaamu n'atambula, ng'ayolekedde ekkubo ery'obukiikaddyo. Enjala n'egwa mu nsi ya Kanani; Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo kubanga enjala yali nnyingi mu nsi. Awo, bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri n'alyoka agamba Salaayi mukazi we nti, “Laba, mmanyi nga ggwe oli mukazi mulungi mu ndabika; kale Abamisiri bwe balikulaba, kyebaliva boogera nti, ‘Oyo ye mukazi we,’ era nze, balinzita naye ggwe balikuleka ng'oli mulamu. Nkwegayiridde, ogambanga nti oli mwannyinaze, balyoke bampise bulungi, n'obulamu bwange buwone ku lulwo.” Awo Ibulaamu bwe yamala okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba mukazi we nga mulungi nnyo. N'abakungu ba Falaawo ne bamulaba, ne bamutendereza eri Falaawo; ne batwala omukazi mu nnyumba ya Falaawo. Falaawo n'ayisa bulungi Ibulaamu ku lwa Salaayi, n'amuwa endiga, ente, endogoyi ensajja n'enkazi, eŋŋamira, abaddu n'abazaana. Mukama n'abonyaabonya Falaawo n'ennyumba ye n'endwadde ez'amaanyi. Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti, “Kino kiki ky'onkoze? Kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo? Kiki ekyakwogeza nti, ‘Ye mwannyinaze,’ nange ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale mukazi wo wuuyo, mutwale ogende.” Falaawo n'alagira abasajja be ne bawerekera Ibulaamu ne mukazi we ne byonna bye yalina. Ibulaamu n'ayambuka ne mukazi we, ne Lutti, n'ebyabwe byonna okuva mu Misiri; ne bagenda mu bukiikaddyo obwa Kanani. Era Ibulaamu yalina obugagga bungi: ente, effeeza, ne zaabu. N'agenda ng'atambula n'ava mu bukiikaddyo n'atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w'e Beseri ne Ayi; mu kifo eky'ekyoto kye yakola eyo olubereberye; n'asinziza eyo erinnya lya Mukama. Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n'ente n'eweema. Ensi n'etabamala bombi okutuula awamu; kubanga ebintu byabwe byali bingi. Ne wabalukawo enkaayana wakati w'abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti. Era Omukanani n'Omuperizi baali ba kyatuula mu nsi eyo mu nnaku ezo. Ibulaamu n'agamba Lutti nti, “Nkwegayiridde waleme okubaawo okukaayana wakati wange naawe ne wakati w'abasumba bange n'ababo; kubanga tuli ba luganda. Ensi yonna teri mu maaso go? Kale nkwegayiridde twawukane. Bw'oneeroboza omukono ogwa kkono, nze n'agenda ku gwa ddyo. Bw'oneeroboza ogwa ddyo, nze n'agenda ku gwa kkono.” Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, okutuukira ddala e Zowaali, nga lulimu amazzi mangi, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora. Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani, n'atambula ng'ayolekedde obuvanjuba; ne baawukana ne Ibulaamu. Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma. N'abantu ab'omu Sodoma baali babi era boonoonyi nnyo nnyini mu maaso ga Mukama. Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti, “Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiikakkono n'obwaddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba; kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna. Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi; era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, oyo mpozzi y'aliyinza okubabala. Situka olambule ensi eyo yonna, kubanga ndigikuwa.” Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule egiri mu Kebbulooni, n'azimbira Mukama eyo ekyoto. Awo mu mirembe gya Amulafeeri kabaka w'e Sinali, Aliyooki, kabaka w'e Erasali, Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, n'egya Tidali, kabaka w'e Goyiyimu, bakabaka abo ne balwanagana ne Bbeera, kabaka w'e Sodoma, ne Bbiruusa, kabaka w'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera, oba Zowaali. Bakabaka abo abataano begattira mu kiwonvu Sidimu, eyo ye nnyanja ey'omunnyo. Baali bafugibwa Kedolawomeeri, okumala emyaka kkumi n'ebiri (12). Mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ne bajeema. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14), Kedolawomeeri ne bakabaka abaali awamu naye, ne bajja, ne bawangulira Abaleefa mu Asuterosikalumayimu, n'Abazuuzi mu Kaamu, n'Abemi mu Savekiriyasayimu, n'Abakooli ku lusozi lwabwe Seyiri, ne babagoba okutuusa mu Erupalaani ekiri okumpi n'eddungu. Olwo ne bakyuka, ne balaga e Nuumisupaati, kati ye Kadesi, ne bawangula ensi yonna ey'Abamereki, n'ey'Abamoli, ababeera mu Kazazonutamali. Awo bakabaka: ow'e Sodoma, n'ow'e Ggomola, n'ow'e Aduma, n'ow'e Zeboyiyimu, n'ow'e Bera, oba Zowaali; ne bategekera wamu olutalo, mu kiwonvu Sidimu, okulwanyisa bakabaka: Kedolawomeeri ow'e Eramu, Tidali, ow'e Goyiyimu, Amulafeeri, ow'e Sinali, ne Aliyooki ow'e Erasali; bakabaka bano abana nga balwanyisa bali abataano. Ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde obunnya obwe ttosi; kabaka ow'e Sodoma n'ow'e Ggomola, bwe badduka ne babugwamu, abalala abaasigalawo ne baddukira ku lusozi. Bakabaka bali abana ne banyaga ebintu byonna mu Sodoma ne Gomora nga mulimu n'eby'okulya byonna, ne bagenda. Ne banyaga Lutti, omwana wa muganda wa Ibulaamu, eyatuulanga mu Sodoma, n'ebintu bye, ne bagenda. Omuntu omu eyawonawo n'ajja n'abuulira Ibulaamu, omwebbulaniya; oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli era muganda wa Aneri; abo bombi baali baalagaana ne Ibulaamu okulwaniranga awamu. Ibulaamu bwe yawulira nga baanyaga omwana wa muganda we, n'agenda n'abasajja ab'omu maka ge, abaatendekebwa mu by'okulwana, bonna nga bawera bisatu mu kkumi na munaana (318), n'awondera bakabaka abana okutuuka e Daani. N'agabanyaamu basajja be mu bibinja, n'alumba abalabe ekiro, n'abawangula, n'abawondera okutuuka e Kkoba, mu bukiikakkono obwa Ddamasiko. N'akomyawo Lutti, mutabani we, omwana wa muganda we, n'ebintu bye, n'abakazi, n'abantu abalala. Ibulaamu bwe yakomawo, ng'amaze okutta Kedolawomeeri, ne bakabaka abalala abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu Kiwonvu ky'e Save, era ekiyitibwa Ekiwonvu kya Kabaka. Ne Merukizeddeeki, kabaka w'e Ssaalemi, era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo; n'aleeta emmere n'omwenge, n'asabira Ibulaamu omukisa, n'ayogera nti, “Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi, awe Ibulaamu omukisa. Era Katonda oyo ali waggulu ennyo akusobozesezza okuwangula abalabe bo, atenderezebwe.” Ibulaamu n'awa Merukizeddeeki ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omunyago gwonna. Kabaka w'e Sodoma n'agamba Ibulaamu nti, “Sigaza ebintu, naye ompe abantu bange bonna.” Ibulaamu n'agamba kabaka w'e Sodoma nti, “Ngolola omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi, nga ndayira nti, Sijja kutwala kintu kyo nakimu, wadde akaguwa oba akakoba akasiba engatto, oleme kwogera nti, ‘Nze ngaggawazizza Ibulaamu.’ Nze sijja kutwala kintu kyo na kimu, wabula ebyo abavubuka abaagenda nange bye balidde; ne Aneri, Esukoli ne Mamule; nabo batwale omugabo gwabwe.” Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti, “Totya, Ibulaamu; nze ngabo yo, era ndikuwa empeera ennene ennyo.” Naye Ibulaamu n'ayogera nti, “Ai Mukama Katonda, ky'olimpa kiringasa ki nga sirina mwana? Alinsikira ye Erieza ow'e Ddamasiko? Laba, nze tompadde zadde, oyo eyazaalibwa mu nnyumba yange ye alinsikira.” Mukama n'amugamba nti, “Omuddu oyo taliba musika wo, naye omwana gw'olizaala ggwe wennyini, ye alikusikira.” N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti, “Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, eziririko, oba nga oyinza.” N'amugamba nti, “n'ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo obungi.” Ibulaamu n'akkiriza. Olw'ekyo Mukama n'amubalira obutuukirivu. N'amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ekya Abakaludaaya, okukuwa ensi eno okugisikira.” Ibulaamu n'ayogera nti, “Ai Mukama Katonda, n'akakasiza ku ki nga ndigisikira?” Mukama n'amugamba nti, “Ndeetera wano ente enkazi ewezezza emyaka esatu, n'embuzi enkazi ewezezza emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto.” Ebyo byonna n'abireeta, buli nsolo n'agitemamu wakati ebitundu bibiri, n'abitegeka nga bitunuuliganye; naye ennyonyi zo n'atazitemamu. Ensega ne zijja ne zigwa ku nnyama; Ibulaamu n'azigoba. Awo enjuba bwe yali ng'egwa, Ibulaamu n'akwatibwa otulo otungi, n'entiisa n'emujjira olw'enzikiza eyali ekutte. Mukama n'agamba Ibulaamu nti, “Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaalyo, era liribaweereza, era liribonyaabonyezebwa okumala emyaka bina (400). Eggwanga eryo ezzadde lyo lye liriweereza, ndirisalira omusango, n'oluvannyuma ezzadde lyo ndiriggyayo nga lirina ebintu bingi. Naye ggwe oliba n'emirembe, era oliwangaala; bw'olifa oliziikibwa bulungi mu bantu bo. Ezzadde lyo lirikomawo mu nsi eno mu mulembe ogwokuna, kubanga okwonoona kw'Abamoli kuliba kuyitiridde.” Awo, enjuba bwe yamala okugwa, nga n'ekizikiza kikutte, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne birabika nga biyita wakati w'ebitundu by'ennyama y'ensolo ebyateekebwateekebwa. Ku lunaku olwo Mukama n'akola endagaano ne Ibulaamu, n'amugamba nti, “Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene, Fulaati; ng'otwaliddemu ensi ey'Omukeeni, ey'Omukenizi, ey'Omukadumooni, ey'Omukiiti, ey'Omuperizi, ey'Abaleefa, ey'Omwamoli, ey'Omukanani, ey'Omugirugaasi n'ey'Omuyebusi.” Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, teyamuzaalira baana. Naye yalina omuzaana Omumisiri, erinnya lye Agali; Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Laba nno, Mukama nze anziyizza okuzaala; nkwegayiridde, twala omuzaana wange ono, oboolyawo alinzaalira abaana.” Ibulaamu n'akkiriza Salaayi by'amugambye. Ibulaamu yali yakamala emyaka kkumi ng'atudde mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we, n'amuwa Agali, omuzaana we Omumisiri, okuba mukazi we. Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n'aba olubuto. Awo Agali bwe yalaba ng'ali lubuto n'anyooma mugole we. Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Mukama asalewo ani mutuufu wakati wo nange, kubanga nze nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo, naye bw'alabye ng'ali lubuto, n'annyooma, naye naawe tofuddeyo kumunenya.” Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti, “Laba, Agali muzaana wo, ggw'omulinako obuyinza, mukole nga bw'oyagala.” Salaayi n'alyoka akambuwalira nnyo Agali, Agali n'amuddukako. Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agali mu ddungu, awali oluzzi, mu kkubo eriraga e Ssuuli. N'amugamba nti, “Agali, omuzaana wa Salaayi, ova wa, era ogenda wa?” Agali n'amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.” Naye malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo, omugondere.” Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ndikuwa ezzadde lingi nnyo, nga terisoboka na kubalika olw'obungi.” Era malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Laba, oli lubuto, olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri, kubanga Mukama awulidde okubonyaabonyezebwa kwo. Era aliba ng'ensolo ey'omu nsiko etefugika. Anaalwanaga na buli muntu, era buli muntu anaalwananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.” Agali n'ayita Mukama eyayogera naye erinnya nti, “Ggwe Katonda alaba.” Kubanga yeebuuza nti, “Ddala ndabye Katonda ne nsigala nga ndi mulamu?” Oluzzi Olwo oluli wakati wa Kadesi ne Beredi kye lwava luyitibwa erinnya Beerirakairo. Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana oyo erinnya Isimaeri Ibulaamu we yazaalira Isimaeri, yali awezezza emyaka kinaana mu mukaaga (86). Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda (99) Mukama n'amulabikira n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu biragiro byange obeerenga mutuukirivu. Ndikola naawe endagaano, era ndikuwa ezzadde lingi.” Ibulaamu ne yeeyala wansi ku ttaka, n'asinza Katonda. Katonda n'amugamba nti, “Laba, nkoze endagaano naawe. Oliba jjajja w'amawanga amangi. Erinnya lyo terikyali Ibulaamu nate, naye erinnya lyo linayitibwanga Ibulayimu; kubanga nkufudde jjajja w'amawanga amangi. Ndikuwa ezzadde lingi, era olivaamu amawanga ne bakabaka. Naanywezanga endagaano gye nkoze naawe, era n'ezzadde lyo eririddawo, okuba endagaano eteridiba emirembe gyonna. N'abanga Katonda wo, era Katonda w'ezzadde lyo. Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo, ensi eno mw'oli. Ensi yonna eya Kanani eriba ya zzadde lyo emirembe gyonna, era nze nnaabanga Katonda waabwe.” Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Ggwe n'ezzadde lyo munaakwatanga endagaano yange emirembe gyonna. Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, wakati wange naawe, n'ezzadde lyo: buli musajja mu mmwe anaakomolwanga. Era munaakomolwanga ekikuta ky'omubiri gwammwe; ako kanaabanga akabonero ak'endagaano wakati wammwe nange. Buli mwana omulenzi anaazaalibwanga mu maka gammwe anaakomolwanga ng'awezezza ennaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abaazaalirwa mu nnyumba zammwe n'abo abagulibwa obugulibwa n'ebintu okuva mu bannamawanga. Buli anaazaalirwanga mu maka gammwe, na buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe. Buli musajja atakomoleddwa, taabalirwenga mu bantu bange, kubanga ab'amenye endagaano yange.” Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Mukazi wo tokyamuyitanga Salaayi, naye erinnya lye linaabanga Saala. Nange ndimuwa omukisa, era alikuzaalira omwana ow'obulenzi. Ddala ndimuwa omukisa, era aliba nnyina w'amawanga; ne mu zzadde lye mulivaamu bakabaka.” Ibulayimu n'alyoka yeeyala ku ttaka nga yeevuunise, n'aseka n'ayogera mu mutima gwe nti, “Oyo awezezza emyaka ekikumi (100) alizaalirwa omwana? Ne Saala awezezza emyaka ekyenda (90) alizaala?” Ibulayimu n'agamba Katonda nti, “Waakiri nno Isimaeri abe mulamu, ansikire!” Katonda n'ayogera nti, “Nedda, Saala mukazi wo alikuzaalira omwana ow'obulenzi, naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka. Naanywezanga endagaano yange naye, n'ezzadde lye emirembe gyonna, okuba endagaano eteriggwaawo. Ne by'osabidde Isimaeri mbiwulidde. Naye ndimuwa omukisa, era ndimuwa ezzadde lingi nnyo, ndimufuula eggwanga eddene, era alivaamu abalangira kkumi na babiri. Naye endagaano yange n'aginywezanga na Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu kiseera ekyateekebwawo, omwaka ogujja.” Katonda bwe yamala okwogera ne Ibulayimu, n'ava awali Ibulayimu n'agenda. Ku lunaku olwo lwennyini, Ibulayimu n'akomola mutabani we Isimaeri, n'abaddu bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne be yagula, era n'abasajja bonna ab'omu maka ge, nga Katonda bwe yamugamba. Ibulayimu yali awezezza emyaka kyenda mu mwenda (99) we yakomolerwa; ate mutabani we Isimaeri yali awezezza emyaka kkumi n'esatu (13). Ibulayimu ne mutabani we Isimaeri, baakomolebwa ku lunaku lwe lumu, wamu n'abasajja bonna ab'omu maka ge, abaazaalirwamu ne be yagula ku bannamawanga. Mukama n'amulabikira Ibulayimu mu ttuntu, bwe yali ng'atudde mu mulyango gw'eweema ye, awali emivule gy'e Mamule; n'ayimusa amaaso ge n'alengera abasajja basatu nga bayimiridde; n'adduka mbiro okubasisinkana, ne yeeyala ku ttaka, n'ayogera nti, “Bakama bange, bwe mulaba nga nsaanidde, mbeegayiridde mukyameko mu maka gange, temumpitako. Ka baleete amazzi, munaabe ebigere, muwummulireko mu kisiikirize ky'omuti, nange nga bwe ndeeta akamere, mulyeko, muddemu amaanyi; kubanga mutuuse mu nnyumba y'omuddu wammwe.” Ne boogera nti, “Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde.” Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti, “Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta obugoye, ofumbe emmere.” Ibulayimu n'adduka mbiro n'agenda mu kiraalo, n'alondamu ennyana eŋŋonvu ennungi, n'agiwa omuddu we agitte agifumbe mangu. Ibulayimu n'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya. Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa Saala mukazi wo?” N'addamu nti, “Ali mu weema.” Omu kubo n'amugamba nti, “Omwaka ogujja mukiseera nga kino, ŋŋenda kukomawo, era Saala mukazi wo aliba azadde omwana ow'obulenzi.” Saala yali munda mu weema, n'awulira. Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eba. Saala n'aseka munda ye, ng'ayogera nti, “Nze akaddiye bwenti, era ne baze naye ng'akaddiye, nkyasobola okufuna essanyu eryo ery'obufumbo?” Mukama n'agamba Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng'agamba nti, ‘Mazima ndizaala omwana nga nkaddiye?’ Waliwo ekirema Mukama? Nga bwe n'agambye, ndikomawo mu kiseera nga kino, omwaka ogujja era Saala aliba azadde omwana ow'obulenzi.” Saala n'alyoka yeegaana, ng'ayogera nti, “Sisese;” kubanga yatya. N'ayogera nti, “Nedda; naye okuseka osese.” Abasajja ne basituka ne bavaawo, ne bagenda mu kifo we bayinza okulengerera Sodoma. Ibulayimu nabawerekerako. Mukama n'ayogera nti, “Sijja kukisa Ibulayimu kye ŋŋenda kukola; kubanga Ibulayimu agenda kuvaamu eggwanga eddene, ery'amaanyi, era mu ye, amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa. Kubanga kyennava mmulonda, alyoke ayigirize abaana be n'abazzukulu, okukwatanga n'okugonderanga ebiragiro byange, nga bakola ebituufu n'eby'amazima, ndyoke ntuukirize bye namusuubiza.” Mukama n'ayogera nti, “Kubanga okwemulugunya olw'obubi obungi obuli mu Sodoma ne Ggomola kunene nnyo; kaakano nnakka ndabe nga bakolera ddala ng'okw'emulugunya okwo okwantuukako bwe kuli, era oba si bwe kityo, naamanya.” Abasajja ababiri kubo ne bavaayo, ne bagenda e Sodoma; naye Ibulayimu n'asigala ng'ayimiridde mu maaso ga Mukama. Ibulayimu n'asembera, n'abuuza nti, “Olizikiriza abatuukirivu awamu n'ababi? Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano (50); era onookizikiriza n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu abo ataano (50) abakirimu? Toyinza kukola ekyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi. Ddala toyinza kubonereza batuukirivu awamu n'ababi. Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu?” Mukama n'ayogera nti, “Bwe nnaalaba mu kibuga Sodoma abatuukirivu ataano (50), nja kusonyiwa ekifo kyonna ku lwabwe.” Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti, “Nsonyiwa, nze enfuufu obufuufu n'evvu, okwetantala okwogera naawe Mukama afuga byonna. Singa ku batuukirivu ataano (50) kunaabulako abataano; era onoozikiriza ekibuga kyonna olw'abataano abo ababulako?” N'addamu nti, “sijja kukizikiriza bwe nnaalabamu ana mu abataano (45).” Ibulayimu n'ayogera naye nate nti, “Singa munaabamu ana (40)?” Mukama n'addamu nti, “Siikole bwe ntyo ku lw'abo ana (40).” Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti, “Nkwegayiridde, Mukama tonsunguwalira, kanjogere nate, singa munaalabikamu asatu (30)?” Mukama n'addamu nti, “Siikole bwe ntyo bwe nnaalabamu asatu (30).” Ibulayimu n'agamba nti, “ Nsonyiwa okwetantala okwogera naawe nate, Afuga byonna. Singa munaasangibwamu abiri (20).” Mukama n'addamu nti, “Sijja kukizikiriza olw'abo abiri (20).” Ibulayimu n'agamba nti, “Tonsunguwalira, kanjogere nate omulundi guno gwokka. Singa munaalabikamu ekkumi (10).” N'addamu nti, “ Sijja kukizikiriza olw'abo ekkumi (10).” Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu n'agenda, ne Ibulayimu n'addayo ewuwe. Bamalayika ababiri bwe batuuka e Sodoma akawungeezi; Lutti yali atudde ku mulyango awayingirirwa mu kibuga Sodoma. Lutti n'abalaba, n'asituka okubasisinkana; n'avuunama mu maaso gaabwe. N'abagamba nti, “Bakama bange, mbeegayiridde mukyame, muyingire ew'omuddu wammwe, munaabe ku bigere era musule. Bwe bunaakya ku makya mulyoke mugende.” Ne baddamu nti, “Nedda, tugenda kusula ku luguudo mu kibuga.” N'abeegayirira nnyo, ne bakkiriza ne bakyama ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye; n'abafumbira embaga, nga kuliko emigaati egitazimbulukusiddwa, ne balya. Naye ng'abagenyi tebanneebaka abasajja ab'omu kibuga Sodoma, abato n'abakulu abaava mu bifo byonna, ne bazingiza ennyumba. Ne bayita Lutti, ne bamubuuza nti, “Abasajja abaayingidde ewuwo ekiro kino bali ludda wa? Bafulumye obatuwe twegatte nabo.” Lutti n'afuluma ebweru gyebali, n'aggalawo oluggi. N'ayogera nti, “Mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkanidde wano. Laba nno, nnina abaana bange abawala babiri embeerera. Ka mbafulumye gye muli, mubakole kye mwagala. Naye temubaako kye mukola ku basajja abo, kubanga bagenyi mu maka gange, nteekwa okubakuuma.” Ne boogera nti, “Vvaawo, Olusajja luno olwasenga obusenzi kuno, kati lwe lutuwa ebiragiro? Kaakano ggwe tujja ku kukola bubi okusinga abo.” Awo Lutti ne bamunyigiriza nnyo, ne basembera okumenya oluggi. Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne basikayo Lutti, ne bamuyingiza ne baggalawo oluggi. Ne baziba amaaso g'abasajja abato n'abakulu abaali ebweru ku luggi, ne bawamanta, ne balemwa okuzuula oluggi we luli. Abasajja ne babuuza Lutti nti, “Olinayo wano abantu abalala? Mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; baggye mu kifo kino. Mukama atutumye okuzikiriza ekifo kino, kubanga awulidde okwemulugunya kw'abantu, olw'obubi obungi obukirimu.” Lutti n'afuluma n'ayogera n'abasajja abaali bagenda okuwasa bawala be, n'abagamba nti, “Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama agenda kuzikiriza ekibuga.” Naye bo ne batafaayo nga balowooza nti asaaga busaazi. Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bapapya Lutti, nga boogera nti, “situka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano; oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga.” Naye Lutti bwe yeekunya; Mukama n'amusaasira, abasajja ne balyoka bakwata ku mukono gwa Lutti, ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babafulumya ebweru w'ekibuga. Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, omu ku basajja n'abagamba nti, “Mudduke muleme okufa; temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi lwonna; muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.” Lutti n'addamu nti, “Nedda mukama wange, nkwegayiridde; omuddu wo alabye ekisa mu maaso go n'omuwonya okufa. Naye olusozi luli wala! Nnaaba sinnatuukayo, akabi ne kantuukako, ne nfa. Akabuga ako akatono okalaba? Ke kali okumpi. Ndeka nzirukire omwo, nneme okufa.” N'amugamba nti, “Kale nkukkirizza, sijja kuzikiriza kabuga k'oyogeddeko. Naye yanguwako, oddukire omwo; kubanga sijja kukola kintu kyonna nga tonnatuukamu.” Akabuga ako ne katuumibwa erinnya Zowaali. Lutti we yatuukira mu Zowaali, enjuba yali ng'evuddeyo. Mukama n'alyoka atonnyesa ku Sodoma ne ku Ggomola omuliro n'obuganga nga biva mu ggulu; Mukama n'alyoka azikiriza ebibuga ebyo byombi, n'olusenyi lwonna, n'abantu bonna abaabirimu, n'ebimera byonna ebyali ku ttaka. Lutti yali akulembeddemu, naye mukaziwe eyali amugoberera, n'atunula emabega, n'afuuka empagi ey'omunnyo. Bwe bwakya enkya Ibulayimu n'agenda mu kifo kiri mwe yasisinkanira Mukama. N'atunuulira Sodoma n'e Ggomola, n'ensi yonna ey'olusenyi, n'alengera omukka nga gunyooka ng'ogw'ekikoomi nga guva ku nsi. Awo Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Lutti mwe yabeeranga, Katonda n'ajjukira Ibulayimu; n'akkiriza Lutti ave mu bibuga ebyo aleme okufa. Lutti yatya okubeera mu Zowaali, kyeyava ayambuka ku lusozi n'abeeranga mu mpuku ne bawala be bombi. Olunaku lumu, omuwala omubereberye n'agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi eno wa kutuwasa ng'empisa y'ensi yonna bw'eri. Kale, tunywese kitaffe omwenge atamiire, tulyoke twegatte naye tuzaale abaana tukuume ezzadde lye.” Awo ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'eyegatta ne kitaawe; kyokka kitaabwe yali atamidde nnyo n'atakimanya. Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti, “Laba, ekiro n'egasse ne kitange; era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe oyingire weegatte naye, tukuume ezzadde lya kitaffe.” Era ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omuto ne yeegatta naye; era kitaabwe yali atamidde nnyo n'atakimanya. Bwe batyo abaana ba Lutti bombi abawala ne baba embuto za kitaabwe. Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu; oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano. Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami; oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano. Ibulayimu n'ava e Mamule n'agenda mu nsi ey'obukiikaddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli. Awo bwe yali ng'ali mu Gerali; Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti, “Ye mwannyinaze.” Awo Abimereki kabaka w'e Gerali kwe kutuma bamuleetere Saala. Naye Katonda n'ajjira Abimereki ekiro mu kirooto n'amugamba nti, “Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba.” Naye Abimereki yali tanegatta ne Saala; n'ayogera nti, “Mukama, onotta eggwanga eritalina musango? Ibulayimu teyaŋŋamba ye yennyini nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Era n'omukazi yennyini n'ayogera nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Kye nnakola, nnakikola mu mutima mulungi.” Katonda n'amugamba mu kirooto nti, “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima mulungi, era nange kye nnava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako. Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga omusajja oyo nnabbi, ajja ku kusabira oleme kufa; naye bw'otomuzzeeyo, tegeera nga ojja kufa ggwe n'abantu bo bonna.” Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abategeeza ebyo byonna, ne batya nnyo. Abimereki n'alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti, “Nakukola ki? Kibi ki kye nnakukola ggwe, olyoke ondeetere nze n'obwakabaka bwange okwonoona kuno okunene?” Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “Wagenderera ki okukola bw'otyo?” Ibulayimu n'addamu nti, “Nnalowooza nti mu kifo kino temuli kutya Katonda; era nti bagenda kunzita olw'omukazi wange. Naye kyo kituufu, Saala mwannyinaze, kubanga mwana wa kitange so si wa mmange, kyennava muwasa. Kale, Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange n'antambuzatambuza mu nsi endala, ne ŋŋamba Saala nti ‘Kino kye ky'ekisa ky'onoonkoleranga. Mu buli kifo mwe tunaatuukanga; ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ” Awo Abimereki n'awa Ibulayimu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'amuddiza ne Saala mukazi we. Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “ Ensi yange yiiyo; tuula wonna w'oyagala.” N'agamba Saala nti, “Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi (1,000) ebya ffeeza; nga ke kabonero akakasa bonna b'oli nabo nti tolina musango” Ibulayimu n'asaba Katonda; Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'abazaana be; ne bazaala abaana; kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, olwa Saala mukazi wa Ibulayimu. Mukama n'atuukiriza byonna bye yasuubiza Saala. Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi; Ibulayimu ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako. Ibulayimu n'atuuma omwana oyo erinnya Isaaka. Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka, ng'awezezza ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira. Ibulayimu yali awezezza emyaka kikumi (100), omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa. Saala n'ayogera nti, “Katonda ansesezza; buli anaawuliranga anaasekeranga wamu nange.” N'ayogera nti, “Ani oyo eyandigambye Ibulayimu nti Saala aliyonsa abaana be? Naye laba kati, muzaalidde omwana ow'obulenzi ng'ankaddiye.” Omwana n'akula, n'ava ku mabeere; Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere. Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'azannya ne Isaaka. Kyeyava agamba Ibulayimu nti, “Goba omuzaana ono n'omwana we kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, Isaaka.” N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo eri Ibulayimu olw'omwana we Isimaeri. Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Kireme okuba ekizibu gy'oli, olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo. Mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaamanyirwanga. Era n'omwana w'omuzaana ndimufuula eggwanga, kubanga naye zzadde lyo.” Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, n'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amugamba agende. Awo Agali n'agenda, ng'abungeetera mu ddungu ery'e Beeruseba. Amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n'azazika omwana wansi w'ekisaka ekimu. N'agenda, walako ebbanga ng'akasaale we kagwa; n'atuula wansi ng'amutunuulira, kubanga yayogera nti, “Saagala kulaba omwana wange ng'afa.” N'atuula wansi ng'amutunuulira, n'akaaba n'eddoboozi eddene. Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; era malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n'amugamba nti, “Obadde ki, Agali? Totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali. Situka ositule omulenzi, omukwate mu mikono gyo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene.” Katonda n'azibula amaaso ga Agali, n'alaba oluzzi, n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi. Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale. N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani; ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri. Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti, “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola; kale nno, ndayirira wano mu maaso ga Katonda nga tonkuusekuusenga nze, newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange; nga nze bwe nkukoledde eby'ekisa, naawe on'onkoleranga bw'otyo nze, n'ensi gy'olimu.” Ibulayimu n'ayogera nti, “Nnaalayira.” Ibulayimu neyeemulugunyiza Abimereki olw'oluzzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi. Abimereki n'ayogera nti, “Simumanyi eyakola bw'atyo; so naawe tombuulirangako, era siwulirangako okuggyako leero.” Ibulayimu n'awa Abimereki endiga n'ente, ne balagaana endagaano bombi. Ibulayimu n'ayawulako endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo n'aziteeka zokka. Abimereki n'abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu z'oyawuddeko awamu zokka, amakulu gakyo ki?” N'addamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu zitwale, zibeere obujulirwa obukakasa nti nze n'asima oluzzi olwo.” Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba; kubanga eyo gye baalayirira bombi. Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba; Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. Ibulayimu n'asimba omuti omumyulira mu Beeruseba, n'asinziza eyo erinnya lya Mukama, Katonda ataggwaawo. Ibulayimu n'amala ennaku nnyingi mu nsi ey'Abafirisuuti. Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'ageza Ibulayimu, n'amugamba nti, “Ibulayimu;” n'addamu nti, “Nze nzuuno.” N'amugamba nti, “Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.” Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako. Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'alengera ekifo. Ibulayimu n'agamba abavubuka be nti, “Mubeere mmwe wano n'endogoyi, nze n'omulenzi tugenda eri tusinze, n'oluvannyuma tunadda gye muli.” Ibulayimu n'addira enku ez'okwokya ekiweebwayo n'azitikka Isaaka omwana we, ye n'atwala omuliro n'akambe; bombi ne bagenda. Isaaka n'ayita Ibulayimu, kitaawe nti, “Kitange!” N'addamu nti, “Nze nzuuno, mwana wange.” Isaaka n'amubuuza nti, “Laba, omuliro n'enku biibino; naye omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” Ibulayimu n'amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa.” Ne beyongerayo bombi. Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimba ekyoto, n'atindikirako enku, n'alyoka asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku nku eziri ku kyoto. Ibulayimu n'agolola omukono gwe, n'akwata akambe okutta omwana we. Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, ng'ayogera nti, “Ibulayimu, Ibulayimu;” n'ayogera nti, “Nze nzuuno.” N'agamba nti, “Totta mulenzi, so tomukolako kabi; kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.” Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge n'amagamaga, n'alaba emabega we endiga ensajja ng'amayembe gaayo gawagamidde mu kisaka. Ibulayimu n'atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire; nga bwe kyogerwa ne leero ku lusozi luno nti, “Mukama agaba.” Awo malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ndayira mu linnya lyange, olw'okubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka; ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa ezzadde ddene, liriba ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era ezzadde lyo liriwangula abalabe baabwe. era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.” Awo Ibulayimu n'addayo eri abavubuka be, ne basituka ne bagendera wamu bonna e Beeruseba; Ibulayimu n'abeeranga eyo. Oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Mirika yazaalira muganda wo Nakoli abaana: Uzi ye mubereberye, ne kuddako Buzi, ne Kemweri, kitaawe wa Alamu; Kesedi, Kaazo, Pirudaasi, Yidulaafu, ne Bessweri.” Bessweri n'azaala Lebbeeka; abo be baana omunaana Mirika be yazaalira Nakoli, muganda wa Ibulayimu. Lewuma, omuzaana wa Nakoli, naye n'azaala: Teba, Gakamu, Takasi, ne Maaka. Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu (127), n'afiira mu Kiriasualaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Ibulayimu n'amukungubagira, era n'amukaabira amaziga. Ibulayimu n'ava awali omulambo, n'agenda eri abaana ba Keesi n'abagamba nti, “Nze ndi mugenyi era mutambuze mu nsi yammwe; munguze ekifo eky'okuziikangamu abafu bange, kibe obutaka bwange mu nsi yammwe.” Abaana ba Keesi ne baddamu Ibulayimu, ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwulire; ggwe oli mukungu mukulu mu ffe: ziika omulambo gwo mu ntaana yaffe gy'oneeroboza mu zonna; tewali mu ffe agenda okukumma entaana ye, wadde okukuziyiza okuziikamu omufu wo.” Ibulayimu n'asituka, n'avuunamira abaana ba Keesi, bannannyini nsi eyo. N'ayogera nabo, n'abagamba nti, “ Nga bwe munzikirizza okuziika omufu wange, munneegayiririre Efulooni, omwana wa Zokali anguze empuku ye eri e Makupeera, ekomererayo mu lusuku lwe; omuwendo gwayo omujjuvu, nga mulaba, ebeere obutaka bwange obw'okuziikangamu.” Awo Efulooni yali atudde wamu n'abaana ba Keesi; mu kifo ekikuŋŋaanirwamu mu mulyango gw'ekibuga, n'addamu Ibulayimu ng'abalala bonna bawulira nti, “Nedda, mukama wange, ompulire; olusuku n'empuku erulimu ngikuwadde ng'abantu bonna balaba; ziikamu omufu wo.” Ibulayimu n'avuunama mu maaso ga bannannyini nsi eyo. N'agamba Efulooni abantu ab'omu nsi eyo nga bamuwulira nti, “Nkwegayiridde wulira kye ŋŋamba, olusuku lwonna kkiriza ndugule omuwendo gwalwo omujjuvu nziikemu omufu wange.” Efulooni n'addamu Ibulayimu, ng'amugamba nti, “Mukama wange, ompulire; akasuku akagula Essekeri eza ffeeza ebina (400) katono nnyo gye ndi. Katwale butwazi oziikemu omufu wo. Omuwendo gwako essekeri eza ffeeza ebina (400) kintu ki eri nze naawe? Kale ziika omulambo gwo.” Ibulayimu n'akkiriza omuwendo Efulooni gwe yamugamba. Ibulayimu n'atoola effeeza bina (400) ng'ezomuwendo ez'obuguzi bwe ziri n'azimuwa. Awo olusuku lwa Efulooni, olwali mu Makupeera, etunuulira Mamule, olusuku n'empuku eyalimu, n'emiti gyonna egyali mu lusuku, egyali mu nsalo yaalwo yonna okwetooloola, byanywezebwa eri Ibulayimu okuba obutaka bwe mu maaso g'abaana ba Keesi, mu maaso ga bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga kye. Oluvannyuma lw'ebyo Ibulayimu n'aziika Saala mukazi we mu mpuku ey'omu lusuku olwa Makupeera etunuulira Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi y'e Kanani. N'olusuku n'empuku erulimu ne binywezebwa abaana ba Keesi eri Ibulayimu okuba obutaka bwe, okuba ekifo eky'okuziikangamu. Ibulayimu yali ayitiridde obukadde, naye mukama yamuwanga omukisa mu bigambo byonna. Ibulayimu n'agamba omuddu we omukulu era eyafuganga byonna bye yalina nti, “Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange; nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani be ntuulamu; naye ogendanga mu nsi gye nnazaalibwamu eri baganda bange, n'owasiza eyo omwana wange Isaaka omukazi.” Omuddu n'amugamba nti, “Omukazi bw'atalikkiriza kujja nange mu nsi eno, olwo omwana wo gwe nditwala mu nsi gye wavaamu?” Ibulayimu n'amugamba nti, “Tozzangayo mwana wange n'akatono. Mukama, Katonda w'eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti, ‘Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno;’ oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo. Naye omukazi bw'atalikkiriza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; Naye ky'otetantalanga kwe kuzzaayo omwana wange.” Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo. Omuddu n'atwala kkumi (10) ku ŋŋamira za Mukama we, n'ebintu byonna ebirungi byaggye ewa mukama we, n'agenda e Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli. Bwe yatuukayo, n'afukamiza eŋŋamira ebweru w'ekibuga, awali oluzzi. Obudde bwali buwungeera nga butuuse abakazi we bafulumiranga okusena amazzi. N'ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu. Laba, nnyimiridde ku luzzi; abaana abawala ab'omukibuga we bajja okusena amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde, ssa ensuwa yo ompe ku mazzi nnywe;’ n'agamba nti, ‘nywa, era n'eŋŋamira zo n'azisenera nezinywa;’ abeera nga ye oyo gw'olondedde omuddu wo Isaaka. Ekyo kwe naategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.” Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika, mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye. N'omuwala yali mulungi nnyo okulaba, omuwala omuto, so nga tewali musajja eyamumanya: n'aserengeta ku nsulo, n'ajjuza ensuwa ye, n'ayambuka. Omuddu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amugamba nti, “nkwegayiridde, Mpa ku mazzi nywe okuva mu nsuwa yo.” N'amuddamu nti, “Nywa, mukama wange;” n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe n'amunywesa. Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti, “Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute.” N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'adduka nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna. Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nga taluwadde. Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n'addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi (10) eza zaabu; n'ayogera nti, “Ggwe oli mwana w'ani? Mbuulira nkwegayiridde. Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ebbanga ffe okusula omwo?” N'amugamba nti, “Nze ndi mwana wa Bessweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli.” Era nate n'amugamba nti, “Tulina essubi era n'eby'okulya ebinaazimala, era n'ebbanga ery'okusulamu.” Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama. N'ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange; nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange.” Omuwala n'adduka, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri. Era Lebbeeka yalina mwannyina erinnya lye Labbaani; Labbaani n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi. Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwannyina, ng'ayogera nti, “Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye,” n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo. N'ayogera nti, “Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? Nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira.” Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'aziwa essubi n'eby'okulya byazo, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye. Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti, “Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa.” N'ayogera nti, “Yogera.” N'ayogera nti, “Nze ndi muddu wa Ibulayimu. Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi, n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi. Ne Saala mukazi wa mukama wange n'azaalira mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye; era oyo n'amuwa byonna by'alina. Ne mukama wange n'andayiza, ng'ayogera nti, ‘Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe: naye oligenda eri ennyumba ya kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi.’ Ne ŋŋamba mukama wange nti, ‘Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange.’ N'aŋŋamba nti, ‘Mukama, gwe ntambulira mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aliwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange; bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange.’ ” “Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda,’ laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti, ‘Ompe, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe.’ naye anaŋŋamba nti, ‘nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo,’ oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange.” “Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n'asena: ne mmugamba nti, ‘Nnywe, nkwegayiridde.’ N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti, ‘Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo,’ ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira. Ne mmubuuza nti, ‘Ggwe oli muwala w'ani?’ N'addamu nti, ‘Ndi muwala wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Awo ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'ebikomo ku mikono gye. Ne nkutama, ne nsinza Mukama; ne nneebaza Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, eyannuŋŋamya mu kkubo ettuufu, ne ndabira mutabani we omukazi mu baana ba muganda we. Kale kaakano, oba munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mmumbuulire. Oba temukkirize, era mmumbuulire, ndyoke nsalewo kye nnaakola.” Labbaani ne Bessweri ne balyoka baddamu ne boogera nti, “Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama; ffe tetuyinza kubaako kyetwongerako oba okukikendeezako. Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, mugende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama nga bw'ayogedde.” Awo olwatuuka, omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'avuunama n'asinza Mukama. Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lebbeeka; era n'awa ne mwannyina ne nnyina ebintu eby'omuwendo omungi. Awo omuddu wa Ibulayimu n'abasajja be yali nabo ne balya ne banywa, ne basula wo; enkya ku makya, n'ayogera nti, “Munsiibule ŋŋende eri mukama wange.” Naye mwannyina wa Lebbeeka ne nnyina ne bamuddamu nti, “Omuwala k'agira abeerako naffe ennaku ntono, gamba nga kkumi, oba okusingawo; alyoke agende.” Omuddu wa Ibulayimu n'addamu nti, “Temundwisa, munsiibule ŋŋende eri mukama wange; kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.” Nabo ne baddamu nti, “ Ka tuyite omuwala tumubuuze, tuwulire ky'agamba.” Awo ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n'omusajja ono?” N'addamu nti, “Nnaagenda.” Ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n'omulezi we, n'omuddu wa Ibulayimu, n'abasajja be yajja nabo. Ne basabira Lebbeeka omukisa, nga bagamba nti, “Mwannyinaffe, beeranga nnyina w'abantu emitwalo n'enkumi, n'ezzadde lyo liwangulenga abalabe baabwe.” Awo Lebbeeka n'abazaana be ne basituka, ne beebagala ku ŋŋamira, ne bagenda n'omuddu wa Ibulayimu. Isaaka yali avudde e Beerirakairoi, n'atuula mu bukiikaddyo obwa Kanani. Awo Isaaka bwe yali ng'atambulatambulako akawungeezi mu nnimiro, n'alengera eŋŋamira nga zijja. Lebbeeka bwe yayimusa amaaso, n'alengera Isaaka, n'ava ku ŋŋamira. Lebbeeka n'abuuza omuddu wa Ibulayimu nti, “ Omusajja oyo atambula mu nnimiro ng'ajja gyetuli ye ani?” Omuddu n'addamu nti, “Ye mukama wange;” awo Lebbeeka n'addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako. Omuddu n'abuulira Isaaka byonna bye yakola. Isaaka n'atwala Lebbeeka mu weema eyali eya Saala nnyina, okuba mukazi we. Isaaka n'amwagala; n'akubagizibwa, nnyina ng'amaze okufa. Awo Ibulayimu n'awasa omukazi omulala, erinnya lye Ketula. N'amuzaalira Zimulaani, Yokusaani, Medani, Midiyaani, Isubaki, ne Suwa. Yokusaani n'azaala Seeba, ne Dedani. N'abaana ba Dedani abasajja baali Asulimu, Letusimu, ne Lewumimu. N'abaana ba Midiyaani abasajja baali: Efa, Eferi, Kanoki, Abida, ne Eruda. Abo bonna bazzukulu ba Ketula. Ibulayimu n'awa Isaaka byonna bye yalina. Naye abaana be abalenzi abalala n'abawa ebirabo. N'abasindika okuva awali omwana we Isaaka, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende mu nsi ey'obuvanjuba bwa Kanani. Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano (175). Ibulayimu n'afa nga mukadde nnyo, n'aziikibwa ku butaka bwe. Isaaka ne Isimaeri batabani be ne bamuziika mu mpuku eri e Makupeera, mu lusuku lwa Efulooni, omwana wa Zokali Omukiiti, olw'olekera Mamule; olusuku olwo abaana ba Keesi lwe baaguza Ibulayimu okuziikamu Saala mukazi we; era naye mwe baamuziika. Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga e Beerirakairoi. Abaana ba Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, Agali Omumisiri, omuzaana wa Saala gwe yazaalira Ibulayimu be bano nga bwe baddiŋŋanwako: omubereberye we ye Nebayoosi, ne kuddako Kedali, Adubeeri, Mibusamu, Misuma, Duma, Masa; Kadadi, Teema, Yetuli, Nafisi, ne Kedema. Abo be baana ba Isimaeri, bajjajja b'ebika ekkumi n'ebibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baasimba eweema zaabwe. Isimaeri n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137); n'aziikibwa awali abantu be. Abaana ba Isimaeri ne batuula okuva e Kavira okutuuka e Ssuuli, okwolekera Misiri, ng'ogenda e Bwasuli; nga beesudde ku baana ba Ibulayimu abalala. Bano be baana ba Isaaka, omwana wa Ibulayimu. Isaaka yali awezezza emyaka ana (40) bwe yawasa Lebbeeka, omwana wa Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu. Labbaani ye yali mwannyina Lebbeeka. Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto. Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti, “Bwe kiri bwe kityo kyenva mbeera omulamu kiki?” N'agenda okubuuza Mukama. Mukama n'amugamba nti, “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo, N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto.” Awo ennaku ze bwe zaatuukirira okuzaala, laba ne baba abalongo mu lubuto lwe. N'omubereberye n'avaamu nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ekyambalo eky'ebyoya; ne bamutuuma erinnya lye Esawu. Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo; era Isaaka yali awezezza emyaka nkaaga (60), mukazi we bwe yabazaala. Abalenzi ne bakula, Esawu n'abanga omuyizzi ow'amagezi, omusajja ow'omu nsiko; ne Yakobo yali musajja muteefu, eyatuulanga mu weema. Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe; ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo. Yakobo n'afumba omugoyo; Esawu n'ayingira ng'avudde mu nsiko, ng'akooye nga talina maanyi: Esawu n'agamba Yakobo nti, “Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi.” Kyebaava bamuyita Edomu. Yakobo n'ayogera nti, “Nguza leero eby'obukulu bwo.” Esawu n'ayogera nti, “Laba, mbulako katono okufa; n'eby'obukulu biringasa bitya?” Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira leero,” n'amulayirira, Esawu n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe. Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, n'agenda. Bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe. Ne wagwa enjala mu nsi, endala so si eyo eyolubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali. Mukama n'amulabikira, n'ayogera nti, “Toserengeta mu Misiri; tuula mu nsi gye nnakugambako: beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo; era nnaayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga Ibulayimu yawuliranga eddoboozi lyange, ne yeekuumanga bye nnamukuutiranga, ebigambo byange, amateeka gange, n'ebiragiro byange.” Isaaka n'atuula mu Gerali; abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti, “Ye mwannyinaze,” kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange;” abasajja baayo baleme okumutta olwa Lebbeeka mukazi we, kubanga yali mulungi nnyo mu ndabika ye. Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunula ng'ayima mu ddirisa, n'alaba Isaaka ng'azannyikiriza Lebbeeka, mukazi we. Abimereki n'ayita Isaaka, n'ayogera nti, “Laba, mazima oyo mukazi wo; lwaki wayogera nti mwannyoko?” Isaaka n'amugamba nti, “N'ayogera bwe ntyo, kubanga nnalowooza nti nnyinza okuttibwa ku bubwe.” Abimereki n'ayogera nti, “Kino kiki ky'otukoze? Omu ku basajja bange yandisuze ne mukazi wo nga tamanyi, n'otuleetera omusango.” Abimereki n'akuutira abantu bonna, ng'ayogera nti, “Buli anaakwatanga ku musajja oyo oba ku mukazi we wa kuttibwa.” Isaaka n'asiga mu nsi eyo, Mukama n'amuwa omukisa, n'afuna mu mwaka ogwo emirundi kikumi (100). Isaaka ne yeyongera okufuna ebintu bingi, n'agaggawala nnyo. Yalina embuzi, ente, n'abaddu bangi; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya. Awo Abafirisuuti baali bazibye enzizi zonna abaddu ba Ibulayimu, kitaawe, ze baali basimye era nga bazijjuzizzaamu ettaka. Abimereki n'agamba Isaaka nti, “Genda, tuveemu; kubanga ofuuse w'amaanyi nnyo okutusinga.” Isaaka n'avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerali, n'abeera eyo. Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafirisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa; n'aziyita amannya gaazo ng'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma. Abaddu ba Isaaka ne basima mu kiwonvu, ne bazuula oluzzi olw'amazzi amalungi. N'abasumba ab'e Gerali ne bakaayana n'abasumba ba Isaaka, nga boogera nti, “Amazzi gaffe.” Isaaka n'atuuma oluzzi olwo erinnya Eseki; kubanga baakaayana naye. Ne basima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira, ne balutuuma erinnya Situna. N'avaayo, n'asima oluzzi olulala; olwo ne batalukaayanira; n'alutuuma erinnya Lekobosi; n'ayogera nti, “Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi eno.” N'avaayo n'ayambuka e Beeruseba. Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo; totya, kubanga nze ndi wamu naawe era nnaakuwanga omukisa, era nnaayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu.” N'azimba eyo ekyoto, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye; n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi. Abimereki n'alyoka ava mu Gerali ng'ali wamu ne Akuzaki mukwano gwe, ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne bagenda eri Isaaka. Isaaka n'abagamba nti, “Kiki ekibaleese gye ndi ng'ate mwankyawa, ne mungoba mu nsi yammwe.” Ne boogera nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali wamu naawe, kye tuva tugamba nti wabeewo obweyamo wakati wo naffe, era tukole endagaano naawe nti, ggwe tootukolengako kabi, nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera eby'ekisa, ne tukuleka n'ogenda mirembe. Kaakano Mukama ggwe gw'awadde omukisa.” N'abafumbira embaga, ne balya ne banywa. Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bakola endagaano; Isaaka n'abasiibula, ne baawukana mirembe. Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba nti, “ Tuzudde amazzi.” N'alutuuma Siba; n'erinnya ly'ekibuga ekyo kyeriva liyitibwa Beeruseba n'okutuusa leero. Esawu bwe yali nga ng'awezezza emyaka ana (40) n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti: Bakazi ba Esawu bano ne banakuwaza Isaaka ne Lebbeeka. Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba bulungi, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti, “Mwana wange;” n'amuddamu nti, “Nze nzuuno.” N'ayogera nti, “Laba nno, nze nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako. Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza; ensawo yo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo; era onfumbire ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa.” Lebbeeka n'awulira Isaaka ng'ayogera ne Esawu omwana we. Esawu n'agenda mu nsiko okuyigga omuyiggo, n'okuguleeta. Lebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti, “Laba, mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti, ‘Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.’ Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange era okole ebyo bye nkulagira. Genda kaakano mu kisibo ky'embuzi, ondetereyo ebuzi ento bbiri; nange nnaazirongooseza kitaawo okuba ennyama ey'akawoowo, nga bw'ayagala; naawe onoogitwalira kitaawo, alye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.” Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti, “Laba, Esawu muganda wange musajja wa bwoya, so nga nze omubiri gwange muweweevu. Mpozzi kitange anaampeeweetako, ne nfaanana ng'omulimba gy'ali, era nneneereetako okukolimirwa, mu kifo ky'omukisa.” Nnyina n'amugamba nti, “Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange; wulira kye ŋŋamba ogende ondeetere embuzi ze nkutumye.” N'agenda, n'azikima, n'azireetera nnyina; ne nnyina n'afumba ennyama ey'akawoowo nga kitaawe wa Yakobo bwe yayagala. Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'abyambaza Yakobo, omwana we omuto; n'ateeka amaliba g'embuzi ento ku mikono gya Yakobo ne ku nsingo awaweweevu. N'awa omwana we Yakobo ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali afumbye. Yakobo n'agenda eri kitaawe, n'ayogera nti, “Kitange” N'addamu nti, “Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange?” Yakobo n'agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bwe wandagidde; golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, olyoke onsabire omukisa.” Isaaka n'agamba omwana we nti, “Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange?” N'ayogera nti, “Kubanga Mukama Katonda wo ambedde.” Isaaka n'agamba Yakobo nti, “Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala, nantiki si ye ggwe.” Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti, “Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu.” N'atamutegeera bulungi, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu; kale n'amusabira omukisa. N'ayogera nti, “Ggwe mwana wange Esawu ddala ddala?” N'ayogera nti, “Nze nzuuno.” N'ayogera nti, “Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, ndyoke nkusabire omukisa.” N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera n'omwenge n'anywa. Kitaawe Isaaka n'amugamba nti, “Sembera kaakano, onnywegere, mwana wange.” N'asembera, n'amunywegera; n'awulira akaloosa k'ebyambalo bye, n'amusabira omukisa, n'ayogera nti, “Laba, akaloosa ak'omwana wange Kaliŋŋaanga akaloosa ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa! Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu, Ne ku bugimu obw'ensi, N'eŋŋaano nnyingi n'omwenge mungi; Abantu bakuweerezenga N'amawanga gakuvuunamirenga; Ofugenga baganda bo, N'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga; Akolimirwenga buli akukolimira, Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.” Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo, nga tannaviira ddala awali Isaaka kitaawe, Esawu muganda we, n'alyoka ayingira ng'avudde okuyigga. Era n'afumba ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo ogw'omwana wo, olyoke omusabire omukisa” Isaaka kitaawe n'amugamba nti, “Ggwe ani?” N'ayogera nti, “Nze Esawu, omwana wo, omubereberye.” Isaaka n'akankana nnyo nnyini; n'ayogera nti, “Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n'agundeetera? Nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne musabira omukisa, era aguweereddwa.” Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba nnyo n'eddoboozi eddene ng'anakuwadde. N'agamba kitaawe nti, “Ayi kitange, nange nsabira.” N'ayogera nti, “Muganda wo azze wano n'animba, era akuggyeko omukisa gwo.” N'ayogera nti, “Kyeyava atuumibwa Yakobo? Kubanga guno omulundi gwa kubiri ng'annyingirira mu byange. Laba yanzigyako eby'obukulu bwange, ate ne kaakano anzigyeko omukisa gwange!” N'agamba kitaawe nti, “Tonterekeddeyo nange mukisa?” Isaaka n'addamu n'agamba Esawu nti, “Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbamuwadde okumuweerezanga; era mmujjanjabye n'eŋŋaano n'omwenge; kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange?” Esawu n'agamba kitaawe nti, “Olina omukisa gumu gwokka, kitange? Nkwegayiridde, nange nsabira” Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. Isaaka kitaawe n'amusabira nti, “Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi, Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu; N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo; Era olulituuka bw'olyesumattula, Oryeyambula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.” Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira; Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti, “Ennaku ez'okukaabira kitange ng'afudde bwe zirituuka ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo.” Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti, “Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta. Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange; golokoka, oddukire eri Labbaani mwannyinaze mu Kalani; Obeere naye okumala ekiseera, okutuusa obusungu bwa muganda wo lwe bulikkakkana, nga yeerabidde kye wamukola. Olwo ndikutumira n'olyoka okomawo. Ssaagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.” Lebbeeka n'agamba Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa abakazi Abakiiti; Yakobo bw'aliwasa omukazi omukiiti, ndiba sikyasaana kuba mulamu.” Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti, “Towasanga omukazi omukanani. Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize eyo omukazi aliva mu bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko. Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwazenga, ofuuke kitaawe w'amawanga amangi; era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo; osikire ensi eno gy'olimu, Katonda gye yawa Ibulayimu.” Isaaka n'asindika Yakobo; n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu. Era Esawu n'ategeera nti Isaaka yasabira Yakobo omukisa, era n'amusindika okugenda e Padanalaamu okwewasizaayo omukazi; era n'ategeera nti bwe yamusabira omukisa yamukuutira obutawasanga mukazi Mukanani. Era Esawu n'ategeera nga Yakobo yawulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu. Esawu bwe yategeera nga kitaawe tayagala bakazi Bakanani; n'agenda ewa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, n'awasa muwala we Makalasi, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we. Yakobo n'ava mu Beeruseba n'ayolekera e Kalani. N'atuuka mu kifo ekimu, n'asulawo, kubanga enjuba yali egudde; n'addira erimu ku mayinja ag'omu kifo ekyo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira okwebaka. N'aloota ng'alaba amadaala agasimbiddwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuka mu ggulu, era laba, bamalayika ba Katonda nga balinnya, era nga bakka ku go. Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti, “Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo; n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukkiikkakkono, n'obukiikaddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa. Era, laba, nze ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.” Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti, “Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi!” N'atya, n'ayogera nti, “Ekifo kino nga kya ntiisa! Kino, mazima, ye nnyumba ya Katonda ddala, era gwe mulyango gw'eggulu.” Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo. N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri; naye erinnya ly'ekibuga ekyo olubereberye lyali Luuzi. Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti, “Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anaampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala, n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange, n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda; era ku byonna by'on'ompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.” Yakobo n'alyoka agenda ng'atambula, n'ajja mu nsi ey'abantu ab'ebuvanjuba. N'atunula, era, laba, oluzzi mu nnimiro era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi; kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo; n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene. N'ebisibo byonsatule ne bikuŋŋaanira awo; ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku luzzi, ne banywesa endiga, era ne bazza ejjinja ku luzzi, mu kifo kyalyo. Yakobo n'abagamba nti, “Baganda bange, muva wa?” Ne boogera nti, “Tuva Kalani.” N'ababuuza nti, “Mumanyi Labbaani omwana wa Nakoli?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.” N'ababuuza nti, “Mulamu?” Ne bamuddamu nti, “Mulamu; era, laba, Laakeeri muwala we ajja n'endiga.” N'ayogera nti, “Laba, kati ttuntu so obudde tebunnatuuka ensolo okukuŋŋaanyizibwa; munywese endiga, mugende muziriise.” Ne boogera nti, “Tetuyinza, ebisibo byonsatule nga tebinnakuŋŋaanyizibwa ku luzzi, tulyoke tunywese endiga.” Bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n'ajja n'endiga za kitaawe; kubanga yeyazirundanga. Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n'endiga za Labbaani, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku luzzi n'anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina. Yakobo n'anywegera Laakeeri n'akaaba mu ddoboozi eddene ennyo. Yakobo n'abuulira Laakeeri nti ndi wa luganda ne kitaawo, ndi mwana wa Lebbeeka; Laakeeri n'adduka n'abuulira kitaawe. Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina nga yazze, n'adduka najja okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna. Labbaani n'amugamba nti, “Mazima ggwe oli ggumba lyange era omubiri gwange.” Yakobo n'abeera yo okumala omwezi gumu. Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Olw'okuba ng'oli muganda wange ky'onoovanga ompererezanga obwereere? Mbuulira, empeera yo eneebanga ki?” Era Labbaani yalina abawala babiri; erinnya ly'omukulu Leeya, n'erinnya ly'omuto Laakeeri. Ne Leeya amaaso ge gaali magonvu; naye Laakeeri yali mulungi n'amaaso ge nga gasanyusa. Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti, “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Laakeeri muwala wo omuto.” Labbaani n'ayogera nti, “Waakiri muwa ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala.” Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gimulabikira ng'ennaku entono olw'okwagala kwe yamwagala. Yakobo n'agamba Labbaani nti, “Mpa omukazi wange muwase kubanga ennaku ze twalagaana ziweddeyo.” Labbaani n'akuŋŋaanya abantu bonna ab'omu kifo, n'afumba embaga. Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; ne yeegatta naye. Labbaani n'awaayo omuzaana we Zirupa, eri muwala we Leeya okuba omuzaana we Awo bwe bwakya enkya, Yakobo n'alaba nga ye Leeya; n'agamba Labbaani nti, “Kiki kino ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Laakeeri? Kale kiki ekikunnimbizza?” Labbaani n'addamu nti, “Ssi mpisa yaffe mu nsi yaffe eno, okufumbiza omuto okusooka omukulu. Sooka omaleko ennaku omusanvu ez'obugole ne Leeya, tulyoke tukuwe n'omulala, olw'okuweereza kw'ogenda okumpeereza nate okumala emyaka emirala musanvu.” Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labbaani n'amuwa muwala we Laakeeri okuba mukazi we. Labbaani n'awaayo ne Bira omuzaana we, okubeera omuzaana wa Laakeeri. Yakobo ne yeegatta ne Laakeeri, era n'amwagala nnyo okusinga Leeya, n'aweereza Labbaani nate, emyaka emirala musanvu. Mukama bwe yalaba nga Leeya yakyayibwa, n'asumulula olubuto lwe; naye Laakeeri yali mugumba. Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Lewubeeni; kubanga yayogera nti, “Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakano baze ananjagala.” N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa, era ky'avudde ampa n'omwana ono.” N'amutuuma erinnya lye Simyoni. N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” N'amutuuma erinnya lye Leevi. N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Omulundi guno nnaamutendereza Mukama;” kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda; n'alekera awo okuzaala. Laakeeri bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, Laakeeri n'akwatirwa obuggya muganda we; n'agamba Yakobo nti, “Mpa abaana, oba si ekyo n'afa.” Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n'agamba nti, “Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma okuzaala abaana?” N'ayogera nti, “Twala omuzaana wange Bira, weegatte naye alyoke azaalire ku maviivi gange, nange nfune abaana mu ye.” N'amuwa Bira omuzaana we okumuwasa; Yakobo ne yeegatta naye. Bira n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. Laakeeri n'ayogera nti, “Katonda asaze omusango, era awulidde eddoboozi lyange, ky'avudde ampa omwana ow'obulenzi.” N'amutuuma erinnya lye Ddaani. Bira omuzaana wa Laakeeri n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri. Laakeeri n'ayogera nti, “Mmegganye ne muganda wange okumeggana okw'amaanyi, era mmezze.” N'amutuuma erinnya lye Nafutaali. Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zirupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo okumuwasa. Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. Leeya n'ayogera nti, “Mbadde wa mukisa!” N'amutuuma erinnya lye Gaadi. Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri. Leeya n'ayogera nti, “Nsanyuse, kubanga abakazi banaampitanga musanyufu.” N'amutuuma erinnya lye Aseri. Mu biseera by'amakungula g'eŋŋaano Lewubeeni n'agenda mu nnimiro n'alabayo amadudayimu, n'agaleetera nnyina Leeya. Awo Laakeeri n'agamba nti, “Nkwegayiridde mpa ku madudayimu ag'omwana wo.” N'amuddamu n'ekkabyo nti, “Okiyita kitono okunzigyako baze? Era oyagala n'okunzigyako n'amadudayimu g'omwana wange?” Laakeeri n'amugamba nti, “Bw'onompa amadudayimu g'omwana wo, Yakobo anaasula naawe ekiro kino.” Yakobo bwe yava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'agamba nti, “Ojja kusula nange ekiro kino, kubanga mpaddeyo amadudayimu g'omwana wange okukugula.” Yakobo n'asula naye ekiro ekyo. Katonda n'awulira Leeya, n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okutaano. Leeya n'ayogera nti, “Katonda ampadde empeera yange, kubanga nnawa baze omuzaana wange.” N'amutuuma erinnya lye Isakaali. Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga. Leeya n'ayogera nti, “Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi; kaakano baze ananzisaamu ekitiibwa kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga.” N'amutuuma erinnya lye Zebbulooni. Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma erinnya Dina. Katonda n'ajjukira Laakeeri, Katonda n'amuwulira, n'aggula olubuto lwe. Laakeeri N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Katonda anzigyeko okuvumibwa kwange.” N'amutuuma erinnya lye Yusufu, ng'ayogera nti, “Mukama annyongeddeko omwana omulala ow'obulenzi.” Awo olwatuuka, Laakeeri bwe yamala okuzaala Yusufu, Yakobo n'agamba Labbaani nti, “Nsiibula nzireyo ewaffe, era mu nsi y'ewaffe. Mpa bakazi bange n'abaana bange be nnakuweererezanga, ndyoke ŋŋende: kubanga omanyi bwe nkuweerezza obulungi.” Labbaani n'amugamba nti, “Kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, beera wano; kubanga nzudde nga Mukama yampa omukisa ku bubwo. Nnamulira empeera gye nnaakuwanga.” Yakobo n'amugamba nti, “Omanyi bwe nnakuweerezanga, nga ndabirira ebisibo byo, era ebisibo byo bwe byali nange. Kubanga bye walina byali bitono nga sinnajja, naye kaakano byeyongedde okuba ebingi era Mukama yakuwa omukisa buli gye nnagendanga yonna. Naye kaakano nze ndifuna ddi eby'omunnyumba yange?” Labbaani n'amubuuza nti, “Nnaakuwa ki?” Yakobo n'amugamba nti, “Tolina ky'onompa. Nja kwongera okulabirira ebisibo byo singa onoonkolera kino: Leka mpite mu kisibo kyo kyonna leero, ŋŋende nga nzijamu buli mbuzi n'endiga enkulu, eza bujagijagi n'ez'ebitanga, na buli ndiga nto enzirugavu okuba empeera yange. Oluvannyuma olimanya oba nga mbadde wa mazima. Bw'olijja okukebera empeera yange, buli mbuzi eteri ya bitanga oba ya bujagijagi, n'endiga eteri nzirugavu bw'erisangibwa nange, eyo eribalibwa nga nzibe.” Labbaani n'ayogera nti, “Kale kibeere ng'ekigambo kyo bwe kiri.” Ku lunaku olwo Labbani n'aggyamu embuzi ennume eza biwuuga, n'eza bitanga, n'embuzi enkazi zonna eza bujagijagi n'eza bitanga, n'ezo zonna ezaalina ebbala eryeru, era n'endiga zonna enzirugavu, n'azikwasa batabani be okuzirabirira. N'assaawo ebbanga wakati we ne Yakobo lya lugendo lwa nnaku ssatu okwawula ezize n'eza Yakobo. Yakobo n'alunda ebisibo bya Labbaani ebyasigalawo. Yakobo n'addira obuti bw'omulibine omubisi, n'obw'omusakedi n'obw'omwalamoni; n'abusasambulako ebikuta ebimu, ne bukola enguudo enjeru. Obuti obwo bw'asusumbudde, n'abusimba mu maaso g'ebisibo mu byesero, ebisibo we byajjanga okunywera, kubanga endiga n'embuzi zawakanga nga zizze okunywa. Ebisibo ne biwakira mu maaso g'obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga, n'eza bujagijagi n'eza bitanga. Yakobo n'ayawula endiga enkazi n'azitunuza mu kisibo kya Labbaani nga zitunulidde eza biwunga, n'enzirugavu ez'omu kisibo kya Labbani. Awo olwatuuka ezaalina amaanyi mu kisibo bwe zabaanga ziwaka, Yakobo n'ateeka obuti mu byesero mu maaso g'ekisibo ziwakire we buli; naye bwe zaabanga ennafu teyabuteekangawo. Bwe zityo ennafu ze zaabanga eza Labbaani, n'ez'amaanyi ne ziba eza Yakobo. Yakobo, n'afuuka mugagga nnyo, n'aba n'ebisibo binene, n'abazaana n'abaddu, n'eŋŋamira n'endogoyi. Yakobo n'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti, “Yakobo atutte ebintu byonna ebyali ebya kitaffe; era mu byo mw'afunidde obugagga obwo bwonna.” Yakobo n'alaba nga Labbaani takyamusanyukira ng'olubereberye. Mukama n'agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, era eri baganda bo; nange nnaabeeranga wamu naawe.” Yakobo n'atumya Laakeeri ne Leeya bajje mu ddundiro awali ekisibo kye, n'abagamba nti, “Ndabye nga kitammwe takyansanyukira ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange abadde wamu nange. Era mumanyi nga nnaweerezanga kitammwe n'amaanyi gange gonna. Era kitammwe yannimba, n'akyusanga empeera yange emirundi kkumi (10); naye Katonda teyamuganya kunkola bubi. Bwe yayogeranga bw'ati nti, ‘Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo,’ ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi; era bwe yayogeranga bw'ati nti, ‘Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo,’ ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuga. Bw'atyo Katonda ensolo za kitammwe yazimuggyako, n'azimpa. Awo olwatuuka mu biro ebisibo mwe biwakira nnaloota ne ndaba ng'ebuzi ennume ezaalinnyira ebisibo zaali za biwuga, bujagijagi ne kiweewoweewo. Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mu kirooto nti, ‘Yakobo,’ ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ N'ayogera nti, ‘Yimusa kaakano amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, bujagijagi, ne kiweewoweewo; kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukola. Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo; kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.’ ” Laakeeri ne Leeya ne baddamu ne bamugamba nti, “Tukyalina omugabo oba busika mu nnyumba ya kitaffe? Tetubalibwa nga bannamawanga gy'ali? kubanga yatutunda, era n'ebintu byaffe abiriiridde ddala. Kubanga obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe, bwe bwaffe era bwa baana baffe: kale kaakano, kyonna Katonda ky'akugambye, kikole.” Yakobo n'alyoka agolokoka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira; n'atwala ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yafunira e Padanalaamu, addeyo eri kitaawe Isaaka, mu nsi ya Kanani. Labbaani yali agenze okusala ebyoya by'endiga ze; Laakeeri n'abba baterafi ba kitaawe. Yakobo n'agenda mu kyama Labbaani Omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuulira ng'adduka. Bw'atyo n'adduka n'ebibye byonna bye yalina, n'asomoka omugga Fulaati, n'ayolekera Gireyaadi, ensi ey'ensozi. Ku lunaku olwokusatu ne babuulira Labbaani nti Yakobo yadduka. Labbani n'atwala baganda be, n'amuwondera olugendo lwa nnaku musanvu; n'amutuukako mu Gireyaadi, ensi ey'ensozi. Katonda n'alabikira Labbaani Omusuuli mu kirooto ekiro, n'amugamba nti Weegendereze tobaako kintu kyonna ky'oyogera ne Yakobo, oba kirungi oba kibi. Labbaani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye mu nsi ey'ensozi; ne Labbaani ne baganda be nabo ne basimba eweema yabwe mu Gireyaadi ensi ey'ensozi. Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala? Kiki ekyakuddusa ekyama n'onkisa ng'ogenda; n'otombuulira, ndyoke nkusiibule n'ekinyumu n'ennyimba, n'ebitaasa n'ennanga; n'otoŋŋanya kunywegera batabani bange ne bawala bange? Ky'okoze kya busirusiru. Nnina obuyinza okukukolako obubi, naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro nti, ‘Weegendereze tobaako kintu kyonna ky'oba oyogera ne Yakobo, oba kirungi oba kibi.’ Mmanyi ng'oyagala okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo. Naye lwaki wabba bakatonda bange?” Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti, “Kubanga nnatya nti oyinza okunzigyako bawalabo olw'empaka. Buli gw'onoosanga ne bakatonda bo attibwe. Kaakano nga tuliwano mu maaso ga baganda baffe, yawulamu ebibyo ebiri mu byange obitwale.” Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri yabba bakatonda ba kitaawe. Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri. Laakeeri yali atutte baterafi, ng'abakweese mu matandiiko g'eŋŋamira ng'abatuddeko. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba. Laakeeri n'agamba kitaawe nti, “Mukama wange tosunguwala kubanga siyinza kuyimirira w'oli nga ndi mu mpisa y'abakazi.” Labbaani n'anoonya, naye n'atalaba baterafi. Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani ng'agamba nti, “Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikunnondooza bw'otyo? Oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabyemu ekikyo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango ffembi. Emyaka egyo abiri (20) gye n'abeeranga naawe; endiga zo n'embuzi zo enkazi tezaasowola, n'ennume ez'omu kisibo kyo saazirya. Eyataagulwanga ensolo saagikuleeteranga; nze nnafiirwanga; eyabbibwanga emisana oba ekiro waginvunaananga. Bwe ntyo bwe nnaabeeranga. Emisana, omusana gwanzigwerangako, ate ekiro empewo n'enfuuwa; era n'otulo twambulanga. Emyaka egyo abiri (20) gye nnali mu nnyumba yo; nnakuweerereza emyaka kkumi n'ena (14) olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga (6) olw'ebisibo byo; naye ggwe wakyusakyusa empeera yange emirundi kkumi (10). Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, kye yavudde akunenya ekiro.” Labbaani n'addamu Yakobo nti, “Abawala bano, bawala bange, n'abaana baabwe be baana bange, n'ebisibo bino bisibo byange, ne byonna by'olaba wano byange; kaakati nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba abaana be baazaala. Kale nno kaakano, tukole endagaano, nze naawe; ebeerenga omujulirwa wakati wo nange.” Awo Yakobo n'addira ejjinja, n'alisimba libe ekijjukizo Yakobo n'agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja,” ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu; ne baliira awo awali entuumu. Labbaani n'agituuma erinnya Yegalusakadusa; naye Yakobo n'agituuma Galeedi. Labbaani n'ayogera nti, “Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero.” Erinnya lyayo kye lyava libeera Galeedi; era Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba nga tetukyalabagana. Bw'onoobonyaabonyanga bawala bange, oba bw'oliwasa abakazi abalala awali bawala bange, wadde tewaliba muntu mulala ali naffe, jjukira nga Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.” Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno ey'amayinja n'empagi eno gye nsimbye wakati wo nange. Entuumu eno n'empagi eno binaabanga abajulirwa baffe nga nze siriyita ku ntuumu eno ku kulumba, era naawe nga toliyita ku ntuumu eno ne ku mpagi eno kunnumba. Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamulenga wakati waffe.” Yakobo n'alayira Katonda wa kitaawe Isaaka, ng'anaakuumanga endagaano eyo. Yakobo n'aweerayo ssaddaaka ku lusozi, n'ayita abantu be okulya emmere; ne balya emmere, ne babeera ku lusozi okukeesa obudde. Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera bazzukulu be ne bawala be, n'abasabira omukisa; Labbaani n'asituka n'addayo ewuwe. Yakobo ne yeeyongera mu lugendo lwe, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. Yakobo bwe yabalaba n'ayogera nti, “Lino lye ggye lya Katonda!” N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Makanayimu. Awo Yakobo n'atuma ababaka okumukulemberamu okugenda eri Esawu muganda we, eyali e Seyiri mu nsi ya Edomu. N'abalagira nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti Yakobo omuweereza wo agamba nti, ‘N'abeeranga ne Labbaani, era mbadde naye okutuusa kaakano. Era nnina ente n'endogoyi n'ebisibo by'endiga n'embuzi, abaddu n'abazaana. Nkutumidde okukutegeeza mukama wange, onkwatirwe ekisa.’ ” Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bagamba nti, “Twatuuka eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana, ng'ali n'abasajja bina (400).” Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira. N'ayawulamu ebibinja bibiri mu bantu abaali naye, ne mu bisibo by'embuzi, n'endiga, n'ente, n'eŋŋamira. N'ayogera nti, “Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona.” Yakobo n'ayogera nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ayi Mukama, eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange nnaakukolanga bulungi,’ sisaanira, n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yoludaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibiina bibiri. Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange Esawu, kubanga mmutya, aleme okunzita n'abaana bange ne bannyaabwe. Naawe wayogera nti, ‘Siiremenga ku kukola bulungi, era nnaafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi.’ ” N'asula awo ekiro ekyo, n'atoola ku ebyo bye yali nabyo okuba ekirabo kya Esawu muganda we; embuzi enkazi bibiri (200), n'ennume abiri (20), endiga enkazi bibiri (200), n'ennume abiri (20), eŋŋamira ezikamibwa asatu (30) n'abaana baazo, ente enkazi ana (40), n'eza sseddume kkumi (10), endogoyi enkazi abiri (20) n'abaana baazo kkumi (10). N'abikwasa abaddu be, buli kisibo nga kiri kyokka; n'abagamba nti, “Munkulembere musomoke, naye mulekeewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo.” N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti, “Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti, ‘Oli w'ani? Ogenda wa? Ebyo by'oli nabyo by'ani?’ Oddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo; Kye kirabo ky'aweerezza mukama wange Esawu. Era Yakobo yennyini atuvaako mabega.’ ” Era n'alagira n'ow'okubiri, n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti, “Esawu bwe munaamusisinkana, Munaamugamba nti, ‘omudduwo Yakobo atuvaako mabega.’ ” Yakobo yagamba nti, “Nja kumuwooyawooya n'ekirabo ekinankulemberamu, olwo bwe nnaamusisinkana, aboolyawo anannyaniriza.” Awo ekirabo ne kimukulemberamu, kyokka ye n'asula awo mu lusiisira ekiro ekyo. Yakobo n'agolokoka ekiro ekyo, n'atwala bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu (11), n'asomoka Omugga Yabboki. N'abatwala, n'abasomosa akagga, n'asomosa ne byonna bye yalina. Kyokka ye n'asigalayo yekka. Awo omusajja n'ajja, n'ameggana naye, okutuusa emmambya lwe yasala. Awo omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoma ku bbunwe; bbunwe wa Yakobo n'anuuka ng'ameggana naye. N'agamba Yakobo nti, “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'ayogera nti, “Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa.” Omusajja n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'amuddamu nti, “Nze Yakobo.” N'ayogera nti, “Erinnya lyo terikyali Yakobo, wabula onooyitibwanga Isiraeri, kubanga owakanye ne Katonda, n'abantu, era owangudde.” Yakobo n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Omusajja n'addamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'amuweera mu kifo ekyo omukisa. Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penueri, ng'agamba nti, “Ndabaganye ne Katonda maaso n'amaaso ne nsigala nga ndi mulamu.” Enjuba n'emwakako ng'ava e Penueri, ng'awenyera olwa bbunwe we. N'okutuusa kaakati Abaisiraeri kye bava tebalya ekinywa ekiri ku bbunwe, kubanga ku kinywa ekyo, omusajja kwe yakoma. Awo Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Esawu ng'ajja n'abasajja bina (400). Yakobo n'agabanyaamu abaana, wakati wa Leeya ne Laakeeri, n'abazaana bombi. N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'akomerezaayo Laakeeri ne Yusufu. Naye ye yennyini n'abakulemberamu, n'avuunama ku ttaka emirundi musanvu nga bw'asemberera muganda we Esawu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, ne bakaaba amaziga. Esawu bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana, n'abuuza nti, “Baani bano abali naawe?” Yakobo n'addamu nti, “Abo be baana, Katonda olw'ekisa kye be yawa omudduwo.” Awo abazaana n'abaana baabwe ne basembera ne bavuunama. Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunama; Yusufu ne Laakeeri nabo ne basembera, ne bavuunama. Esawu n'amubuuza nti, “Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo ki?” N'amuddamu nti, “Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange.” Esawu n'amugamba nti, “Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo.” Yakobo n'ayogera nti, “Nedda, nkwegayiridde! Kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange; kubanga ndabye amaaso go, ne mba ng'omuntu bwe yandirabye amaaso ga Katonda, n'onsanyukira. Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala.” N'amwegayirira, Esawu n'akitwala. Awo Esawu n'agamba nti, “Tukwate ekkubo tugende, nze nja kukulemberamu.” Yakobo n'addamu nti, “Mukama wange omanyi ng'abaana bakyali bato, tebannafuna maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange, ziyonsa. Bwe banaazigoba ennyo, wadde olunaku olumu, amagana gonna gajja kufa. Nkwegayiridde, mukama wange ggwe kulembera nange omuddu wo najja mpolampola nga bwe nnaasobola okutambula, n'ensolo ze nkulembezzaamu era n'abaana, nkutuukeko mu Seyiri.” Esawu n'agamba nti, “Kale ka nkulekere ku bantu abali nange.” Kyokka Yakobo n'agamba nti, “Ekyo tekyetaagisa, bwe mba nga ndabye ekisa mu maaso go Mukama wange.” Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo e Seyiri Naye Yakobo n'atambula n'agenda e Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo ekyo kye lyava liyitibwa Sukkosi. Yakobo bwe yava e Padanalaamu, n'atuuka mirembe mu kibuga kye Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, n'asiisira okumpi n'ekibuga. N'agula ettaka ku baana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, ebitundu bya feeza kikumi (100), n'asimba eweema ye. N'azimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri. Awo Dina, omuwala Leeya gwe yazaalira Yakobo, n'agenda okukyalira abawala Abakanani. Sekemu omwana wa Kamoli Omukiivi, omukulu w'ensi, n'amulaba, n'amutwala n'amukwata lwa mpaka, n'amusobyako Omutima gwe ne gwe gatta ne Dina muwala wa Yakobo, n'amwagala nnyo, n'ayogera naye n'ekisa. Sekemu n'agamba kitaawe Kamoli nti, “Mpasiza omuwala oyo.” Yakobo n'awulira nga Sekemu yasobya ku Dina muwala we; naye kubanga batabani be baali n'ensolo ze mu ddundiro, n'asirika okutuusa lwe badda. Kamoli kitaawe wa Sekemu n'afuluma eri Yakobo okuteesa naye. Batabani ba Yakobo ne bakomawo nga bava mu ddundiro. Bwe baakiwulira, ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga Sekemu yali akoze eky'omuzizo mu Baisiraeri, bwe yasobya ku muwala wa Yakobo, ekitagwanira kukola. Kamoli n'ayogera nabo nti, “Mutabani wange Sekemu ayagala kuwasa muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase. Era mufumbiriganwenga naffe; mutuwenga ffe abawala bammwe, era muwasenga mmwe abawala baffe. Munaabeeranga wamu naffe mu nsi yaffe, mubeerenga we mwagala, musuubulirenga muno, mwefunire ebintu.” Sekemu n'agamba kitaawe wa Dina ne bannyina nti, “Singa ndabye ekisa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nnaakibawa. Ebintu eby'obuko n'ebirabo bye munansalira, ne bwe binenkana wa obungi, nnaabibawa, kasita munaampa omuwala okumuwasa.” Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe, ne babagamba nti, “Tetuyinza kukola kino, okuwa mwannyinaffe omusajja atali mukomole; kubanga ekyo kyandibadde kya nsonyi gyetuli. Tunaabakkiriza lwa kino kyokka: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga. Olwo tunaabawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu. Naye bwe mutaatuwulire, okukomolebwa; olwo tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda.” Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli, ne mutabani we Sekemu. Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo yalina ekitiibwa okusinga abalala bonna ab'omu nnyumba ya kitaawe. Kamoli ne Sekemu omwana we, ne bajja mu wankaaki w'ekibuga kyabwe, ne bateesa n'abasajja ab'omu kibuga kyabwe, nga boogera nti, “Abasajja abo, tebaagala kutulwanyisa. Tubaleke babeerenga mu nsi eno wamu naffe, era basuubulirengamu, kubanga ensi ngazi ekimala. Ffe tuwasenga abawala baabwe, era nabo tubawenga abawala baffe. Endagaano eno yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo okutuula awamu naffe, okufuuka eggwanga erimu naffe, singa buli musajja muffe anaakomolebwanga nga bo bwe bakomolebwa. Ente zaabwe n'ebintu byabwe n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? Kale tukkiriziganye nabo, batuulenga naffe.” Abasajja bonna abaali mu wankaaki w'ekibuga, ne bakkiriza ebya Kamoli ne Sekemu mutabani we; buli musajja n'akomolebwa. Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, bwe baali nga balumwa ebiwundu, batabani ba Yakobo babiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne bakwata ebitala byabwe, ne bazinduukiriza ekibuga ne batta abasajja bonna. Ne battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu, ne bavaayo. Batabani ba Yakobo abalala bwe basanga nga babasse, ne banyaga eby'omu kibuga nga beesasuza olwa mwannyinaabwe gwe baagwagwawaza. Baanyaga endiga, embuzi n'endogoyi zaabwe, n'ebintu byonna ebyali mu kibuga n'ebyali mu nnimiro. N'obugagga bwabwe bwonna, n'abaana baabwe bonna abato n'abakazi baabwe, ne babasiba ne babanyaga, ne byonna ebyali mu nnyumba. Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde omutawaana; okunkyayisa mu Bakanani ne mu Baperizi. Nnina abantu batono. Kale singa bali bonna balyekuŋŋaanya ne bannumba, balisaanyawo ennyumba yange yonna.” Naye bo ne baddamu nti, “Yakola kirungi okuyisa mwannyinaffe ng'omwenzi?” Katonda n'agamba Yakobo nti, “Golokoka, oyambuke e Beseri, gye nnakulabikira ng'odduka mugandawo Esawu, otuule eyo onzimbire ekyoto.” Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebitukula; tusituke twambuke e Beseri; nange ndizimbira eyo Katonda ekyoto, eyannyamba, mu biseera ebizibu, era eyabanga nange mu kkubo lye natambuliramu.” Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina n'empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n'abiziika wansi w'omuti omwera, ogwali mu Sekemu. Ne batambula, entiisa ennene n'ekwata ab'omu bibuga ebibeetoolodde, ne batabawondera. Awo Yakobo n'abantu bonna abaali naye, ne batuuka e Luzzi, ye Beseri ekiri mu nsi ya Kanani. N'azimba eyo ekyoto, ekifo ekyo n'akituuma Erubeseri, kubanga eyo Katonda gye yamulabikira bwe yali ng'adduka Esawu muganda we. Debola, omulezi wa Lebbeeka n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera; ne bagutuuma erinnya Alooninakusi. Katonda n'alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalaamu, n'amuwa omukisa. Katonda n'amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; naye okuva kati tokyayitibwa Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Isiraeri. Katonda n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; oyale era weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo; n'ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo eririddawo.” Katonda n'ava awali Yakobo, Yakobo n'asimba empagi ey'amayinja mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, n'agifukako ekiweebwayo eky'okunywa n'amafuta. Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri. Awo Yakobo n'ab'omu nnyumba ye ne bava e Beseri ne batambula; baali babulako katono okutuuka mu Efulasi; ebiseera bya Laakeeri eby'okuzaala ne bituuka, n'alumwa nnyo. Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti, “Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala.” Awo olwatuuka, bwe yali anaatera okufa, n'atuuma omwana we erinnya Benoni, naye kitaawe n'amutuuma Benyamini. Laakeeri n'afa, ne bamuziika ku mabbali g'ekkubo erigenda e Efulasi, ye Besirekemu. Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge; eyo ye mpagi ey'amalaalo ga Laakeeri ne leero. Isiraeri ne yeyongerayo mu lugendo lwe, n'asimba eweema ye ng'ayisizza omunaala gwa Ederi. Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe; Isiraeri n'akimanya. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri. Abaana ba Leeya be bano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo, Simyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, ne Zebbulooni. Abaana ba Laakeeri: Yusufu ne Benyamini. Abaana ba Bira, omuzaana wa Laakeeri: Ddaani ne Nafutaali. Abaana ba Zirupa, omuzaana wa Leeya: Gaadi ne Aseri. Abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa e Padanalaamu. Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe e Mamule, mu Kiriasualaba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana (180). Isaaka n'afa nga akaddiye nnyo, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Abaana be Esawu ne Yakobo ne bamuziika. Kuno kwe kuzaala kwa Esawu, ayitibwa Edomu. Esawu yawasa ku bawala b'Abakanani: Ada muwala wa Eroni Omukiiti, Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni Omukiivi; ne Basimansi omuwala wa Isimaeri, mwannyina Nebayoosi. Ada n'azaala Erifaazi; Basimansi n'azaala Leweri; ne Okolibama n'azaala Yewusi, Yalamu, ne Koola. Abo be batabani ba Esawu, abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani. Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be n'abantu bonna abaali mu nnyumba ye, n'ebisolo bye byonna, n'ebintu bye byonna bye yafunira mu nsi ya Kanani; n'agenda mu nsi endala, n'abeera wala ne muganda we Yakobo. Kubanga ebintu byabwe byali bingi nnyo nga tebayinza kubeera wamu. Ensi mwe baabeeranga yali tekyayinza kubamala olw'amagana amangi ge baalina. Esawu, ye Edomu, n'atuula ku lusozi Seyiri. N'olulyo lwa Esawu jjajja wa Abaedomu abaali ku lusozi Seyiri lwe luno: batabani ba Esawu amannya gaabwe ge gano: Erifaazi omwana wa Ada mukazi wa Esawu, Leweri omwana wa Basimansi mukazi wa Esawu. Ne batabani ba Erifaazi be bano: Temani, Omali, Zefo, Gatamu ne Kenazi. Erifaazi mutabani wa Esawu yalina omuzaana ayitibwa Timuna, eyamuzaalira Amaleki. Abo be baana ba Ada omukazi wa Esawu. N'abaana ba Leweri baabano: Nakasi, Zeera, Samma, ne Mizza. Abo be baali abaana ba Basimansi omukazi wa Esawu. N'abaana ba Okolibama omwana wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, mukazi wa Esawu, be bano: Yewusi, Yalamu, ne Koola. Bino bye bika ebisibuka mu baana ba Esawu. Okuva mu Erifaazi omubereberye wa Esawu: ekika kya Temani, ekya Omali, ekya Zefo, ekya Kenazi. Ekya Koola, ekya Gatamu n'eky'Amaleki. Ebyo bye bika ebyava mu Erifaazi mu nsi ya Edomu, era be bazzukulu ba Ada. Okuva mu Leweri: ekika kya Nakasi, ekya Zeera, ekya Samma n'ekya Mizza. Ebyo bye bika ebyava mu Leweri mu nsi ya Edomu, era be bazzukulu ba Basimansi mukazi wa Esawu. Okolibama, mukazi wa Esawu, ye jjajja w'ebika bino: ekya Yewusi, ekya Yalamu, n'ekya Koola. Ebyo bye bika ebyava mu Okolibama muwala wa Ana, mukazi wa Esawu. Abo be baana ba Esawu, ayitibwa Edomu n'ebika byabwe. Abaana ba Seyiri Omukooli, abaatuulanga mu nsi ya Edomu be bano: Lotani, Sobali, Zibyoni, ne Ana. Disoni, Ezeri ne Disani. Ebyo bye bika ebyava mu Bakooli, era abaana ba Seyiri mu nsi ya Edomu. Abaana ba Lotani be bano: Koli ne Kemamu; mwannyina Lotani ye Timuna. Abaana ba Sobali be bano: Aluvani, Manakasi, Ebali, Sefo ne Onamu. Abaana ba Zibyoni be bano: Aya ne Ana. Ana oyo ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya, bwe yali ng'alunda endogoyi za Zibyoni kitaawe. Abaana ba Ana be bano: Disoni ne Okolibama omuwala. Abaana ba Disoni be bano: Kemudaani, Esubani, Isulani ne Kerani. Abaana ba Ezeri be bano: Birani, Zaavani ne Akani. Abaana ba Disani be bano: Uzi ne Alani. Ebika ebyava mu Bakooli bye bino: ekika kya Lotani, ekya Sobali, ekya Zibyoni, n'ekya Ana. Ekya Disoni, ekya Ezeri, n'ekya Disani. Ebyo bye bika ebyava mu Bakooli abaali batuula mu Seyiri. Bassekabaka abaafuga mu nsi ya Edomu nga tewannabaawo kabaka yenna afuga mu baana ba Isiraeri be bano: Bera mutabani wa Byoli n'afuga mu Edomu; n'ekibuga kye nga kiyitibwa Dinukaba. Bera n'afa, Yobabu mutabani wa Zeera ow'e Bozula n'alya obwakabaka mu kifo kye. Yobabu n'afa, Kusamu ow'ensi ya Abatemami n'alya obwakabaka mu kifo kye. Kusamu n'afa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani mu nsi ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye; n'ekibuga kye nga kiyitibwa Avisi. Kadadi n'afa, Samula ow'e Masuleka n'alya obwakabaka mu kifo kye. Samula n'afa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiriraana n'omugga n'alya obwakabaka mu kifo kye. Sawuli n'afa, Baalukanani omwana wa Akubooli n'alya obwakabaka mu kifo kye. Baalukanani mutabani wa Akubooli n'afa, Kadali n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye nga kiyitibwa Pawu. Erinnya lya mukazi we ye Meketaberi, muwala wa Matuledi, muzzukulu wa Mezakabu. Ebika ebyava mu Esawu bye bino: ekika kya Timuna, ekya Aluva, n'ekya Yasesi. Ekya Okolibama, ekya Era, n'ekya Pinoni. Ekya Kenazi, ekya Temani, n'ekya Mibuzali. Ekya Magudyeri, n'ekya Iramu. Ebyo bye bika ebya Edomu nga bwe byatuulanga mu nsi ey'obutaka bwabwe. Oyo ye Esawu jjajja wa Abaedomu. Yakobo n'abeeranga mu nsi ya Kanani kitaawe mwe yatuulanga. Bino bye byafaayo bya maka ga Yakobo: Yusufu bwe yali nga awezezza emyaka kkumi na musanvu (17), yali ng'alunda ekisibo awamu ne baganda be, n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe. Yusufu n'aloopanga eri kitaawe ebibi bye baakolanga. Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye; n'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi. Baganda ba Yusufu ne balaba nga kitaabwe amwagala nnyo okubasinga bonna; ne bamukyawa, ne batayogera naye bya mirembe wabula eby'okuyomba. Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be; ne beeyongera nate okumukyawa. N'abagamba nti, “Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye nnaloose; Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.” Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga ggwe, oba olitutwala ggwe?” Ne beeyongera nate okumukyawa olw'ebirooto bye n'olw'ebigambo bye. N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti, “Laba, nnaloose ekirooto ekirala; ng'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye ekkumi n'emu (11) nga binvuunamira.” N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti, “Kirooto ki kino kye waloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulijja okukuvuunamira?” Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'akuumanga ebigambo ebyo bye yayogera. Awo baganda ba Yusufu bwe baali bagenze e Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe; Isiraeri n'abuuza Yusufu nti, “Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? Jjangu nkutume gyebali.” N'amuddamu nti, “Nzuuno.” N'amugamba nti, “Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gye kiri kirungi; okomewo ombuulire.” Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu. Omusajja n'amusanga ng'atambuliratambulira mu ttale, n'amubuuza nti, “Onoonya ki?” Yusufu n'addamu nti, “ Nnoonya baganda bange; nkwegayiridde, mbuulira gye balundidde ekisibo.” Omusajja n'ayogera nti, “Baagenda, kubanga nnabawulira nga boogera nti, ‘Tugende e Dosani.’ ” Yusufu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dosani. Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne beekobaana okumutta. Ne bagambagana nti, “Laba, ssekalootera wuuyo ajja. Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti, Ensolo enkambwe ye yamulya; ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba.” Lewubeeni bwe yawulira ekyo n'afuba okuwonya Yusufu n'agamba nti, “tuleme okumutta.” Lewubeeni era n'agamba nti, “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala amuwonye, amuddize kitaawe. Awo olwatuuka, Yusufu bwe yatuuka eri baganda be, ne bamwambulamu ekyambalo kye eky'amabala amangi; ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga temuli mazzi. Bwe baali nga balya, ne bayimusa amaaso gaabwe, ne balengera ekibiina ky'Abayisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne mooli, nga babitwala mu Misiri. Yuda n'agamba baganda be nti, “Kiritugasa kitya okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe? Kale tumutunde mu ba Isimaeri, ffe tuleme kumukolako kabi, kubanga muganda waffe, era musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza. Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yusufu ne bamusika ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu ba Isimaeri abo, ebitundu by'effeeza abiri (20). Ne batwala Yusufu mu Misiri. Lewubeeni bwe yaddayo awali obunnya, n'asanga nga Yusufu taliimu, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala. N'addayo eri baganda be, n'agamba nti, “Omwana taliiyo. Kale nze n'addawa?” Ne batta embuzi ennume ne bannyika ekyambalo kya Yusufu mu musaayi gwayo; ne baddira ekyambalo ekyo ne bakitwalira kitaabwe; ne bamugamba nti, “Twasanga ekyambalo kino. Kaakano laba oba nga kye kyambalo ky'omwana wo, oba si ky'ekyo.” Yakobo n'akitegeera, n'agamba nti, “Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo ey'omunsiko yamulya; awatali kubuusabuusa, Yusufu yataagulwataagulwa.” Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we okumala ennaku nnyingi. Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bajja okumugumya naye ne kitasoboka, n'abagamba nti, “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba.” Abamidiyaani ne bamuguza Potifaali mu Misiri; omwami wa Falaawo, era omukulu w'abambowa. Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'agenda n'abeera n'omusajja Omwadulamu, erinnya lye Kira. Yuda n'alabayo omuwala w'Omukanani, erinnya lye Suwa, n'amuwasa; N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; Yuda n'amutuuma erinnya Eri. N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya Onani. Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seera; Yuda yali mu Kezibi, bwe yazaalibwa. Yuda n'awasiza Eri omwana we omubereberye omukazi, erinnya lye Tamali. Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali wa mpisa mbi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta. Yuda n'agamba Onani nti, “Twala nnamwandu wa muganda wo Eri omuwase, nga bwe kigwanira, oddizzeewo muganda wo ezzadde.” Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yeegatta ne nnamwandu wa muganda we, amazzi agazaala n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde. Ekintu ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama; n'oyo n'amutta. Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti, “Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula.” Yayogera bw'atyo, kubanga yatya nti Seera naye ayinza okufa nga baganda be. Awo Tamali n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe. Ekiseera nga kiyiseewo, muka Yuda, muwala wa Suuwa n'afa. Ebiseera eby'okukungubaga bwe byaggwaako, Yuda ne mukwano gwe Kira Omwadulaamu ne bambuka e Timuna, eri abasajja be abasalako endiga ebyoya. Ne babuulira Tamali nti, “Laba, ssezaala wo ayambuka e Timuna okusala endiga ze ebyoya.” Tamali neyeyambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe, ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa. Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nti mwenzi; kubanga yali yeebisse mu maaso. N'agenda gy'ali ku mabbali g'ekkubo, n'amugamba nti, “Nkwegayiridde ka nneegatte naawe.” Yayogera bw'atyo kubanga teyamanya nti ye muka mwana we. N'amuddamu nti, “Onoompa ki bw'oneegatta nange?” N'ayogera nti, “Ndikuweereza omwana gw'embuzi ogw'omu kisibo.” N'ayogera nti, “Onoompa omusingo, okutuusa lw'oliguweereza?” N'amubuuza nti, “Musingo ki gwe nnaakuwa?” N'amuddamu nti, “Akabonero ko n'akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” N'abimuwa, ne yeegatta naye n'aba olubuto lwe. Tamali n'asituka n'agenda n'ayambulamu eky'okubikka ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obwannamwandu bwe. Yuda n'atuma mukwano gwe omwadulamu okutwalira omukazi omwana gw'embuzi n'okuggyayo omusingo gwe, naye n'atamulaba. N'alyoka abuuza abasajja ab'Enayimu nti, “Omukazi omwenzi abeera wano ku mabbali g'ekkubo ali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Wano tewabawangawo mukazi mwenzi.” N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti, “Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti, ‘Wano tewabanga mwenzi.’ ” Yuda n'ayogera nti, “Gyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi, kasita nnaweerezza omwana ogw'embuzi ogwo, naye ggwe n'otomulaba.” Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti, “Tamali muka mwana wo yayenda; kati ali lubuto lwa bwenzi.” Yuda n'ayogera nti, “Mumufulumye bamwokye.” Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti, “Omusajja nannyini bino ye yanfunyisa olubuto.” N'ayogera nti, “Nkwegayiridde, weetegereze ebintu bino by'ani: akabonero, akajegere n'omuggo?” Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti, “Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga ssaamuwa Seera omwana wange.” Yuda n'ategatta naye nate mulundi gwa kubiri. Awo olwatuuka entuuko ze ez'okuzaala bwe zaatuuka, ne kitegeerekeka nti agenda kuzaala balongo. Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze; omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti, “Ono ye asoose okufuluma.” Awo olwatuuka bwe yazzaayo engalo ze, muganda we n'afuluma; omuzaalisa n'ayogera nti, “Bw'otyo bw'owaguzza?” Kye yava amutuuma erinnya Pereezi. Oluvannyuma muganda we n'afuluma, eyalina akagoye akamyufu ku ngalo ze; n'amutuuma erinnya Zeera. Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifaali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula ku ba Isimaeri, abaamuserengesaayo. Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa omukisa mu buli kye yakolanga. Potifaali n'asiima Yusufu, n'amufuula omuweereza we ow'enjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna. Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa omukisa ennyumba ey'Omumisiri ku bwa Yusufu; omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro. Potifaali n'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya bintu bye byonna, okuggyako emmere gye yalyanga. Yusufu yali mulungi nnyo mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n'atunuulira Yusufu; n'ayogera nti, “Weebake nange.” Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange; tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze, wabula ggwe, kubanga oli mukazi we; kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?” Newakubadde ng'omukazi oyo yeetayiriranga Yusufu buli lunaku, naye Yusufu n'agaana okusula naye wadde okubeera naye. Awo olwatuuka mu biro ebyo, Yusufu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; nga tewali basajja balala mu nnyumba. Omukazi n'akwata Yusufu ekyambalo n'amugamba nti, “Weebake nange.” Yusufu n'aleka ekyambalo kye mu ngalo z'omukazi n'adduka n'afuluma ebweru. Awo olwatuuka, omukazi bwe yalaba Yusufu ng'alese ekyambalo kye mu ngalo ze, naye n'adduka n'afuluma ebweru. Omukazi n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti, “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebbulaniya okutujooga; ayingidde gye ndi okunsobyako, ne ndeekaana nnyo. Awo olutuuse, bw'awulidde nga ndeekaana nnyo n'aleka ekyambalo kye mu ngalo zange n'adduka n'afuluma ebweru.” Omukazi n'atereka ekyambalo kya Yusufu okutuusa mukama we lwe yakomawo eka. N'amubuulira ebigambo bye bimu nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingira gye ndi n'agezaako okunsobyako. Awo olwatuuka, bwe nnaleekaana ennyo n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'afuluma ebweru.” Mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba Yusufu bye yakola; obusungu bwe ne bubuubuuka. Potifaali n'atwala Yusufu mu kkomera, ekifo abasibe ba Kabaka mwe basibirwa n'abeera omwo. Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'amukwatirwa ekisa, n'amuwa okusiimibwa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera. Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yusufu abasibe bonna okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera. Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwa Yusufu, kubanga Mukama yali wamu ne Yusufu, n'ebyo bye yakola Mukama n'abiwa omukisa. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe, kabaka w'e Misiri. Falaawo n'asunguwalira abaami be bombi, omukulu w'abasenero, n'omukulu w'abafumbiro. N'abasibira mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, mu kkomera, mu kifo Yusufu mwe yasibirwa. Omukulu w'abambowa n'abakwasa Yusufu, okubaweereza; ne bamalayo ekiseera kiwanvu nga basibiddwa. Mu kiro ekimu, nga bali eyo mu kkomera, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'Emisiri, buli omu n'aloota ekirooto kye. Yusufu n'ajja gye baali ku makya, n'abasanga nga banakuwadde. N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we nti, “Kiki ekibanakuwazizza bwe kityo leero.” Ne bamugamba nti, “Tuloose ekirooto, so tewali ayinza okututegeeza amakulu gaakyo.” Yusufu n'abagamba nti, “Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? Mukimbuulire, mbeegayiridde.” Omusenero omukulu n'abuulira Yusufu ekirooto kye, n'amugamba nti, “Mu kirooto kyange, laba, omuzabbibu gubadde mu maaso gange; ne ku muzabbibu kubaddeko amatabi asatu; ne guba ng'ogwanya, ne gusansula ebimuli; n'ebirimba byagwo ne bibala ezabbibu ennyengevu; n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo.” Yusufu n'amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu ze nnaku essatu. Mu nnaku ssatu, Falaawo ajja kukusumulula okuva mu kkomera akuddize obwami bwo; era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, nga bwe wakolanga edda ng'okyali omusenero we. Naye onzijjukiranga nze bw'oliraba ebirungi, ondage nze ekisa, nkwegayiridde, onjogerangako eri Falaawo, onzigye mu kkomera lino, kubanga mazima nnanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya; era ne kuno sikolanga kibi ekyandibanteesezza mu kkomera.” Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu nti, “Nange nnaloose ekirooto, nga netisse ebibbo bisatu ku mutwe ebirimu emigaati, ne mu kibbo ekya waggulu mwabaddemu emigaati gya Falaawo egy'ebika eby'enjawulo; ennyonyi ne zigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.” Yusufu n'addamu n'ayogera nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku essatu; Mu nnaku ssatu, Falaawo ajja kukusumulula okuva mu kkomera akuwanike ku muti, n'ennyonyi zirirya omulambo gwo.” Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonna embaga; n'asumulula omusenero omukulu n'omufumbiro omukulu okuva mu kkomera. N'akomyawo nate omusenero omukulu mu busenero bwe; n'awangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo; naye n'awanika omufumbiro omukulu, nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu g'ebirooto byabwe. Naye omusenero omukulu n'atajjukira Yusufu, naye n'amwerabira. Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Falaawo n'aloota ng'ayimiridde ku mugga Kiyira. Era, laba, mu mugga ne muvaamu ente musanvu (7) ennungi eza ssava; ne zitandika okulya omuddo. Era, laba, ente endala musanvu (7) embi era enkovvu ne ziziddirira, nga nazo ziva mu mugga; ne ziyimirira ku mabbali g'omugga awali ente ziri endala. Ente embi era enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu (7), ennungi eza ssava. Awo Falaawo n'azuukuka. Ne yeebaka nate, n'aloota omulundi ogwokubiri; era, laba, ebirimba by'eŋŋaano musanvu (7) ne bimera ku kikolo kimu, ebigimu era nga birungi. N'ebirimba by'eŋŋaano ebirala musanvu (7) ne bibiddirira; ne bimera nga bitono era nga bibabuddwa empewo eziva mu ddungu. Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba biri omusanvu (7) ebigimu era ebinene. Falaawo n'azuukuka, n'ategeera nti abadde aloota. Awo bwe bwakya enkya, Falaawo ne yeerariikirira, n'atumya abalaguzi n'abagezigezi, bonna ab'omu Misiri; n'ababuulira ebirooto bye. Omusenero omukulu n'alyoka agamba Falaawo nti, “Leero nzijjukidde okwonoona kwange; Falaawo bwe yasunguwalira abaddu be, n'abasibira mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, nze n'omufumbiro omukulu; ffembi ne tuloota ebirooto mu kiro kimu, ng'ekirooto kya buli omu kirina amakulu ag'enjawulo. Bwe twali mu kkomera, twali n'omulenzi Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira ebirooto byaffe, era n'atuvvuunulira amakulu gaabyo; yategeeza buli muntu ng'ekirooto kye bwe kyali. Ne biba bwe bityo nga bweyabituvvuunulira; nze nnazzibwa ku bwami bwange, n'oli n'awanikibwa.” Falaawo n'alyoka atumya Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera; bwe yamala okwemwa, n'okukyusa ebyambalo bye, n'agenda eri Falaawo. Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Nnaloota ekirooto, so tewali ayinza okuvvuunula amakulu gaakyo; era mpulidde nga bakwogerako nti oyinza okuvvuunula amakulu g'ekirooto bw'oba okiwulidde.” Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera nti, “Si nze; naye Katonda y'anaawa Falaawo okuvvuunula okulungi.” Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Mu kirooto kyange, nnabadde nga nnyimiridde ku mabbali g'omugga Kiyira; era, laba, mu mugga ne muvaamu ente musanvu (7) ennungi, eza ssava; ne zitandika okulya omuddo. Era, laba, ente endala musanvu (7) ennafu, embi ennyo, enkovvu, ze ssirabangako mu nsi yonna ey'e Misiri ne ziziddirira. Ente enkovvu era embi, ne zirya ente omusanvu eza ssava ezaasoose. Awo bwe zaamala okuzirya omuntu nga tayinza kutegeera nti ziziridde kubanga zaasigala nkovvu nga bwe zaali olubereberye. Awo ne nzuukuka. Era mu kirooto ekirala ne ndaba, ebirimba bye ŋŋaano musanvu (7) ebinene era ebirungi, nga bimeze ku kikolo kimu. N'ebirimba by'eŋŋaano ebirala musanvu (7) ne bibiddirira; ne bimera nga bitono era nga bibabuddwa empewo eziva mu ddungu. Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba ebirungi omusanvu (7) ne nkibuulira abalaguzi; naye tewali eyayinza okubivvuunula.” Yusufu n'agamba Falaawo nti, “Ekirooto kyo kiri kimu; Katonda akutegeezezza by'agenda okukola. Ente omusanvu (7) ennungi gye myaka omusanvu (7) n'ebirimba omusanvu (7) ebirungi gye myaka omusanvu (7) ebirooto byombi birina amakulu ge gamu. N'ente omusanvu (7) enkovvu, embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu (7), era n'ebirimba omusanvu (7) ebitaliimu mpeke ebibabuddwa empewo eziva mu ddungu gye giriba emyaka omusanvu (7) egy'enjala. Ebyo bye bigambo bye nkumbuulidde, ayi Falaawo; Katonda akulaze by'agenda okukola. Laba, walibaawo emyaka musanvu (7) egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri. Oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu (7) egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'enjala erizikiriza ensi. Ekyengera kiryerabirirwa ddala mu nsi, olw'enjala erikiddirira, kubanga eriba nnyingi nnyo. Ekirooto kya Falaawo kye kyava kiddibwamu emirundi ebiri, kubanga Katonda yali anyweza ekigambo kye, era ng'alikituukiriza mangu. Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukalabakalaba era ow'amagezi, amuwe okufuga ensi ey'e Misiri. Falaawo akole bw'atyo, era asseewo abalabirizi ku nsi, atereke ekitundu eky'ekkumi eky'ensi ey'e Misiri mu myaka omusanvu (7) egy'ekyengera. Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, batereke eŋŋaano mu bibuga, mu mukono gwa Falaawo, bagikuume. N'emmere eyo eriterekebwa olw'emyaka omusanvu (7) egy'enjala egiribaawo eriba eggwanika mu nsi ey'e Misiri; abantu baleme okufa enjala.” Enteekateeka eyo yali nnungi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be bonna. Falaawo n'agamba abaddu be nti, “Tuyinza okulaba omusajja afaanana ng'oyo, omusajja omuli omwoyo gwa Katonda?” Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Kubanga Katonda akulaze ebyo byonna, tewali mukalabakalaba era ow'amagezi nga ggwe. Ggwe onoofuganga ensi yange, era n'abantu bange bonna banaakuwuliranga; kyokka nze nzekka, nze nnaakusinganga obukulu.” Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Laba, nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri.” Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'aginaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. N'amutambuliza mu ggaali eryokubiri lye yalina; ne balangirira mu maaso ge nti, “Mufukamire.” Falaawo n'awa Yusufu okufuga ensi yonna ey'e Misiri. Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, era mu nsi ey'e Misiri tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere nga tokkirizza.” Falaawo n'atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi, kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri. Yusufu yali awezezza emyaka asatu (30) we yatandikira okuweereza Falaawo, kabaka w'e Misiri. Yusufu n'ava mu maaso ga Falaawo, n'atambula n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri n'agibunya. Mu myaka omusanvu (7) egy'ekyengera ensi n'ebala emmere nnyingi nnyo. Yusufu n'akuŋŋaanyanga emmere nnyingi nnyo mu myaka omusanvu (7) egy'ekyengera, n'agiterekanga mu bibuga. N'aterekanga mu buli kibuga emmere okuva mu nnimiro ezikyetoolodde. Yusufu n'atereka eŋŋaano nnyingi nnyo ng'omusenyu ogw'ennyanja, era n'alekera awo okugipima kubanga yali tekyapimika. Asenaasi, omwana wa Potiferi, kabona we Oni, n'azaalira Yusufu abaana ab'obulenzi babiri, omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka. Yusufu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manase; eritegeeza nti, “Katonda anneerabizza ennaku yange yonna.” N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu; eritegeeza nti, “Katonda anjalizza mu nsi ey'okubonaabona kwange.” Emyaka omusanvu (7) egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako. Emyaka omusanvu (7) egy'enjala ne gitandika, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri. Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere; Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti, “Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mubikolenga bwe mutyo.” Enjala n'ebuna ensi zonna; Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri eŋŋaano. Abantu ne bavanga mu nsi zonna ne bajjanga mu Misiri eri Yusufu okugula eŋŋaano, olw'enjala eyali ennyingi mu nsi zonna. Awo Yakobo bwe yamanya nga e Misiri eriyo eŋŋaano, n'agamba batabani be nti, “Lwaki mudda awo okutunula obutunuzi?” N'abagamba nti, “Mpulidde nga e Misiri eriyo eŋŋaano; kale muserengete mugende mutugulireyo ku ŋŋaano, tulyoke tubeere abalamu, tuleme okufa.” Baganda ba Yusufu ekkumi (10) ne baserengeta e Misiri okugula eŋŋaano. Naye Benyamini, muganda wa Yusufu, Yakobo teyamutuma wamu ne baganda be, kubanga yatya nti oba oli awo akabi kayinza okumubaako. Awo abaana ba Isiraeri ne bajja awamu n'abantu abalala okugula eŋŋaano, kubanga mu nsi ya Kanani mwalimu enjala. Yusufu ye yali omukulu w'ensi; era ye yaguzanga abantu bonna emmere. Awo baganda be ne bajja, ne bamuvuunamira nga bawunzise amaaso wansi. Yusufu n'alaba baganda be, n'abategeera, naye ne yeefuula nga munnaggwanga gyebali, n'ayogera nabo n'ebboggo; n'ababuuza nti, “Muva wa?” Ne baddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere” Yusufu ne yekkaanya baganda be, naye bo ne batamutegeera. Yusufu n'ajjukira ebirooto bye yaloota ku bo, n'abagamba nti, “Muli bakessi; muzze okulaba obunafu bw'ensi yaffe.” Ne bamuddamu nti, “Nedda, mukama waffe, naye ffe abaddu bo tuzze kugula mmere. Ffenna tuli baana b'omu; era tuli ba mazima, so tetuli bakessi n'akatono.” N'abagamba nti, “Nedda, naye muzze okulaba obunafu bw'ensi yaffe.” Ne boogera nti, “Ffe abaddu bo tuli ba luganda kkumi na babiri (12), ab'omu nsi ya Kanani; naye muto waffe omu asigaddeyo ne kitaffe, ate omulala taliiwo.” Yusufu n'abagamba nti, “Kye kiikyo kye mbagambye nti muli bakessi; Ndayidde obulamu bwa Falaawo, mujja kugezebwa bwe muti: temugenda kuva wano okutuusa nga muganda wammwe oyo eyasigaddeyo azze wano. Mutume munnammwe omu, akime muganda wammwe. Mmwe abalala mujja kusibibwa mu kkomera, okutuusa lwe tunaakakasa nti bye mugamba bya mazima. Bwe kitaabe bwe kityo, nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti ddala muli bakessi.” Awo bonna n'abasibira mu kkomera okumala ennaku ssatu. Ku lunaku olwokusatu Yusufu n'abagamba nti, “Ndi muntu atya Katonda, mukole bwe muti mubeere abalamu: oba nga muli ba mazima, omu ku mmwe asigale nga musibe mu kkomera mwe mubadde, naye mmwe abalala mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano gye muguze, baleme okufa enjala. Era mundeetere muto wammwe; ekyo kirikakasa nga bye mwogedde bya mazima, nammwe temulittibwa.” Ne bakola bwe batyo. Ne bagambagana nti, “Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku eno ky'evudde etutuukako.” Lewubeeni n'abaddamu ng'ayogera nti, “Ssaabagamba nti temukola kabi ku mwana; nammwe ne mugaana okuwulira? Era omusaayi gwe kyeguva gutuvunaanyizibwa.” Ne batamanya nga Yusufu ategedde ebigambo byabwe; kubanga omuvvuunuzi yabanga wakati we nabo. Yusufu n'ava we bali, n'akaaba amaziga; oluvannyuma bwe yaddayo gyebali n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusibira mu maaso gaabwe. Awo Yusufu n'alagira okujjuza ensawo zaabwe eŋŋaano, n'okuddiza buli muntu effeeza ye mu nsawo ye, n'okubawa entanda ey'omu kkubo. Ne babakolera bwe batyo. Ne bateeka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda. Munnaabwe omu bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye, mu kifo kye baasulamu, n'alaba effeeza ye nga eri ku mumwa gw'ensawo ye. N'agamba baganda be nti, “Effeeza yange enkomezebbwawo; era, laba, eri mu nsawo yange.” Emitima gyabwe ne gibatyemuka, ne bakyukiragana nga bakankana nga boogera nti, “Kino kiki Katonda ky'atukoze?” Bwe baatuuka ewa kitaabwe Yakobo, mu nsi ya Kanani, ne bamubuulira byonna ebyababaako; nga boogera nti, “Omusajja, omukulu w'ensi, yayogera naffe n'ebboggo, n'atulowooza okuba abakessi b'ensi ye. Ne tumugamba nti, ‘Tetuli bakessi, tuli ba mazima; tuli ba luganda kkumi na babiri (12), kitaffe omu; omu ku ffe taliiwo, ate muto waffe asigadde ne kitaffe mu nsi ya Kanani.’ Omusajja, omukulu w'ensi, n'atugamba nti, ‘Ku kino kwe nditegeerera nti muli baamazima; Omu ku mmwe asigale wano nange, naye abalala mugende mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano, baleme okufa enjala. Mundeetere muto wammwe; olwo lwe n'ategeera nga temuli bakessi n'akatono, naye nga muli basajja ba mazima; bwe ntyo ndibaddiza muganda wammwe, nammwe munaasuubulanga mu nsi eno.’ ” Awo olwatuuka bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, buli muntu n'asanga effeeza ye mu nsawo ye; bo ne kitaabwe, bwe baalaba buli omu effeeza ye ne batya. Yakobo kitaabwe n'abagamba nti, “Nze mummazeeko abaana bange; Yusufu taliiwo, era ne Simyoni taliiwo, ate era mwagala okunzigyako ne Benyamini; ebyo byonna binzitoowerera.” Lewubeeni n'agamba kitaawe nti, “Bwesirikomyawo Benyamini gy'oli, ottanga batabani bange bombi. Munkwase, ndimukomyawo gy'oli.” N'ayogera nti, “Omwana wange tajja kugenda nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka; akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, okunakuwala kwe mulindeetera kulinzita nze omukadde.” Enjala n'enyinnyittira nnyo mu nsi. Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri n'eggwaawo, kitaabwe n'abagamba nti, “Muddeyo nate, mutugulire akamere.” Yuda n'amugamba nti, “Omusajja yatulabulira ddala ng'ayogera nti, ‘Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali wamu nammwe.’ Bw'onokkiriza muganda waffe okugenda naffe, tunaagenda ne tukugulira emmere; naye bw'otomukkirize tetujja kugenda; kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe.’ ” Isiraeri n'ayogera nti, “Kiki ekyabankoza obubi obwenkanidde awo okubuulira omusajja nti mulina ow'oluganda omulala?” Ne baddamu nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako, ne ku baganda baffe, ng'agamba nti, ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Twamuddamu ebyo bye yatubuuza. Twanditegedde tutya nti anaatugamba nti, ‘Muleete muganda wammwe?’ ” Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti, “Omulenzi mukwase nze, naffe tunaasituka ne tugenda; tulyoke tube abalamu ffe, naawe, era n'abaana baffe abato, enjala ereme okututta. Nze nneeyamye okumukuuma; olimubuuza nze, bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna; kuba singa tetuludde, mazima kaakano twandibadde nga tukomyewo omulundi ogwokubiri.” Awo Isiraeri kitaabwe n'abagamba nti, “Oba nga bwe kiri bwe kityo, mukole bwe muti: mutwale mu nsawo zammwe ebirabo bye munaawa omusajja. Mumutwalire ku bintu eby'omu nsi eno ebisinga obulungi: ku nvumbo, ku mubisi gw'enjuki, omugavu, n'obubaane, ebinyebwa n'endoozi. Omuwendo gwa effeeza gye mwasooka okutwala mugikubiseemu emirundi ebiri, mwongereko n'effeeza eyakomezebwawo ku bumwa bw'ensawo zammwe, oba oli awo baagikomyawo mu butanwa. Era mutwale ne muganda wammwe, musituke, muddeyo eri omusajja. Katonda Omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja, abasumululire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa.” Abasajja ne batwala ebirabo n'effeeza ekubisiddwamu emirundi ebiri awamu Benyamini; ne basituka ne bagenda e Misiri, ne beeyanjula mu maaso ga Yusufu. Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti, “Twala abasajja bano mu nnyumba yange, otte ensolo; kubanga bajja kuliira wamu nange eky'emisana.” Omusajja n'akola nga Yusufu bwe yamulagira; n'abatwala mu nnyumba ya Yusufu. Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti, “Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; alyoke atuvunaane, atuwamatukireko, atunyageko endogoyi zaffe, atufuule abaddu be.” Ne basemberera omuwanika w'ennyumba ya Yusufu, ne boogerera naye nga bali ku mulyango gw'ennyumba, ne bagamba nti, “Ayi mukama waffe twajja wano olubereberye okugula emmere; awo bwe twatuuka mu kifo wetwasuula nga tuddayo ewaffe, netusumulula ensawo zaffe, netusanga effeeza eya buli omu ng'eri ku mumwa gw'ensawo ye; era tugikomezzaawo. Era tuleese n'effeeza endala okugula emmere; naye tetumanyi ani yateeka effeeza mu nsawo zaffe.” Omuwanika n'abagamba nti, “Mubeere n'emirembe, temutya; Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe; naye nze nnaweebwa effeeza yammwe gye mwasasula.” Awo n'abasumululira Simyoni. Omuwanika n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere; n'awa n'endogoyi zaabwe eby'okulya. Ne bateekateeka ebirabo eby'okuwa Yusufu ng'azze gyebali mu ttuntu, kubanga baali babagambye nti banaaliira eyo wamu naye ekyemisana. Awo Yusufu bwe yakomawo eka, abasajja ne bamuleetera ebirabo bye baali nabyo mu nnyumba, ne bamuvuunamira. N'ababuuza bwe baali, era n'ababuuza nti, “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako akyali mulamu?” Ne baddamu nti, “Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu.” Ne bakutama, ne bamuvuunamira. N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti, “Oyo ye muto wammwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange!” Yusufu n'avaawo mangu, kubanga emmeeme yamutenguka olwa muganda we; n'anoonya w'anaakaabira amaziga. N'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo. N'anaaba mu maaso, n'afuluma; n'azibiikiriza n'agamba nti, “Mujjule emmere.” Yusufu ne bamusoosootolera yekka, ne baganda be ne babasoosootolera bokka, n'Abamisiri abaalya ku kijjulo ekyo nabo ne babasoosootolera bokka, kubanga Abamisiri tebaliira wamu na Baebbulaniya. Ab'oluganda ne batuuzibwa nga batunuulidde Yusufu, nga bwe baddiŋŋanako mu kuzaalibwa, okuva ku asinga obukulu, okutuuka ku asembayo obuto. Ne batunuliganako nga beewuunya. Yusufu n'ababegera ebitole ku mmere ye; naye ekitole kya Benyamini kye kyasinga ebya banne byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu ne Yusufu. Yusufu n'alagira omuwanika w'ennyumba ye nti, “Jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye. Era teeka ekikompe kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, wamu n'effeeza ye.” Omuwanika n'akola nga Yusufu bw'amugambye. Awo bwe bwakya enkya, abasajja ne basiibulwa, nga bali n'endogoyi zaabwe. Bwe baali bakava mu kibuga naye nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti, “Situka ogoberere abasajja abo; bw'onoobatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki obulungi mu busasuddemu obubi? Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anyweramu, era ky'alaguza? Mukoze bubi nnyo.’ ” N'abatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo. Ne bamugamba nti, “Kiki eky'ogezezza mukama waffe ebigambo ebiriŋŋaanga ebyo? Kitalo, ffe abaddu bo okukola ekigambo ekyenkanidde awo. Laba, effeeza gye twasanga mu bumwa bw'ensawo zaffe, twagizza gy'oli, okuva mu nsi ya Kanani; kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo? Buli anaasangibwa ku baddu bo ng'ali nakyo, attibwe era naffe abasigaddewo tunaaba baddu bo.” N'ayogera nti, “Kale nno kaakano kibe nga bwe mugambye. Anaasangibwa ng'ali nakyo ye anaaba omuddu wange; nammwe abalala temubeeko musango.” Awo ne banguwa, ne beetikkula buli muntu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye. Omuwanika wa Yusufu, n'ayaza, ng'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto; ekikompe ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini. Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, buli muntu n'ateeka ebintu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga. Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu, ne bamusanga ng'akyaliyo; ne bavuunama mu maaso ge. Yusufu n'abagamba nti, “Kikolwa ki kino kye mukoze? Temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala?” Yuda n'ayogera nti, “Tunaagamba tutya mukama wange? Tunaayogera tutya? Oba tunaawoza tutya? Katonda alabye obutali butuukirivu bw'abaddu bo; Kati tuli baddu ffe awamu n'oyo asangiddwa n'ekikompe.” Yusufu n'agamba nti, “Nedda, siyinza kukola bwe ntyo. Oyo yekka asangiddwa n'ekikompe ye anaaba omuddu wange. Naye mmwe abalala muddeyo mirembe eri kitammwe.” Awo Yuda n'alyoka asemberera Yusufu n'ayogera nti, “Ayi mukama wange nkwegayiridde, nzikiriza nze omuddu wo njogereko naawe, tonsunguwalira, kubanga olinga Falaawo ddala. Mukama wange yabuuza abaddu be ng'ayogera nti, ‘Mulina kitammwe, oba muganda wammwe?’ Naffe ne tugamba mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana bannyina, era kitaawe amwagala.’ Naawe n'ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmukubeko amaaso.’ Ne tugamba mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuleka kitaawe; kubanga bw'alimuleka, kitaawe alifa.’ Abaddu bo n'obagamba nti, ‘Muto wammwe bw'atalijja nammwe, temuliddayo kulaba ku maaso gange nate.’ Awo bwe twatuuka eri kitaffe ne tumubuulira ebigambo byonna bye wayogera. Kitaffe n'ayogera nti, ‘Muddeyo nate, mutugulire akamere.’ Naffe ne twogera nti, ‘Tetuyinza kuddayo, muto waffe bw'atagende naffe, kubanga tetugenda kuddayo kulaba ku maaso ga musajja, wabula nga muto waffe ali wamu naffe.’ Omuddu wo kitange n'atugamba nti, ‘Mumanyi nti mukazi wange yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri; omu n'anvaako, kye nnava njogera nti Mazima yataagulwataagulwa ensolo enkambwe, era siddangayo ku mulabako, era bwe munanzigyako n'ono, akabi ne kamutuukako, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde!’ Kale kaakano bwe ndiddayo eri omuddu wo kitaffe ng'omulenzi oyo omuganzi tali wamu naffe, olwo abaddu bo ffe tuliba tuleetedde kitaffe okufa olw'okunakuwala. Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitaffe nga njogera nti, ‘Bwe sirimukomyawo gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitaffe ennaku zonna.’ Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be. Kubanga ndituuka ntya eri kitange, ng'omulenzi tali wamu nange? Siyinza kugumira kabi akalituuka ku kitange.” Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti, “Mufulumye abantu bonna bave we ndi.” Ne watasigala muntu n'omu bwe yali nga yeeyoleka eri baganda be. N'akaaba n'eddoboozi ddene, Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira. Yusufu n'agamba baganda be nti, “Nze Yusufu; kitange akyali mulamu?” Baganda be ne batya nnyo, okulaba nga bayimiridde mu maaso ge, ne batayinza kumuddamu. Yusufu n'agamba baganda be nti, “Munsemberere, mbeegayiridde.” Ne basembera. N'ayogera nti, “Nze Yusufu, muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri. Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno; kubanga Katonda ye yankulembeza okubawonya mmwe mu kufa. Enjala yaakamala mu nsi emyaka ebiri; ate ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula. Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonya ne bazzukulu bammwe, muleme okufa mu ngeri ey'ekitalo. Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda; era ye yanfuula nga kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri. Kale mwanguwe, muddeyo eri kitange, mumugambe nti, Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti, Katonda yanfuula omufuzi wa Misiri yonna; Jjangu gye ndi awatali kulwa. Onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abazzukulu bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina. Nnaakulabiriranga ng'oli eyo; ggwe n'ab'omu maka go, ne byonna by'olina, oleme kwavuwala, kubanga wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano (5) egy'enjala. Kaakano mmwe mwennyini mulaba, era ne muganda wange Benyamini alaba, nga nze Yusufu yennyini ayogera nammwe. Mubuulire kitange ekitiibwa kyange kyonna kye nnina mu Misiri, era mumutegeeze ne byonna bye mulabye; mwanguwe mumuleete wano.” Awo Yusufu n'agwa muganda we Benyamini mu kifuba n'akaaba amaziga; Benyamini naye n'akaabira mu kifuba kye. Yusufu n'anywegera baganda be bonna, nga bw'akaaba amaziga; n'oluvannyuma baganda be ne banyumya naye. Ebigambo bwe byatuuka mu lubiri lwa Falaawo nti, “baganda ba Yusufu bazze,” Falaawo n'abakungu be ne basanyuka nnyo. Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mutikke ebintu ku nsolo zammwe, muddeyo mu nsi ya Kanani; muleete kitammwe n'ab'omu nnyumba zammwe, mujje ewange, nange ndibawa ettaka erisinga obugimu mu Misiri, era munaalyanga ebirungi eby'omu nsi eno.’ Era balagire nti, ‘Mukole bwe muti: nga muva mu nsi ey'e Misiri, mugende n'amagaali kwe mulireetera abaana bammwe abato ne bakazi bammwe, mujje ne kitammwe. Era temweraliikirira kulekayo bintu byammwe, kubanga ebisinga obulungi mu nsi ey'e Misiri yonna biriba byammwe.’ ” Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo; Yusufu n'abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira, n'abawa n'entanda ey'omu kkubo. Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza bisatu (300), n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano. Ne kitaawe n'amuweereza bw'ati: endogoyi kkumi (10) ezeetisse ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi (10) ezeetisse eŋŋaano n'emmere, n'eby'okulya kitaawe by'aliriira mu kkubo. Bw'atyo n'asiibula baganda be ne bagenda; n'abagamba nti, “Mwekuume muleme okuyombera mu kkubo.” Ne bava e Misiri, ne baddayo e Kanani eri Yakobo kitaabwe. Ne bamugamba nti, “Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri,” n'azirika kubanga teyabakkiriza. Ne bamubuulira ebigambo byonna Yusufu bye yabagamba; bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwaliramu, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amaanyi. Isiraeri n'ayogera nti, “Kinaamala; Yusufu omwana wange akyali mulamu; nja kugenda okumulaba nga sinnafa.” Awo Isiraeri n'atwala byonna bye yalina n'agenda e Beeruseba, n'awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka. Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, n'amugamba nti, “Yakobo, Yakobo.” N'addamu nti, “Nze nzuuno.” N'ayogera nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta mu Misiri; kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene. Ndigenda naawe e Misiri, era sirirema kukuggyamu nate; era bw'olifa, Yusufu alikuziika.” Yakobo n'asituka, n'ava e Beeruseba; batabani be ne bamuteeka ye, n'abaana baabwe ne bakazi baabwe, mu magaali kabaka w'e Misiri ge yaweereza okumutwaliramu. Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bagenda mu Misiri. Yakobo n'agenda n'ezzadde lye lyonna, batabani be ne bazzukulu be ab'obulenzi n'ab'obuwala. Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaagenda e Misiri, Yakobo ne batabani be: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo. Ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, Palu, Kezulooni, ne Kalumi. Simyoni ne batabani be: Yemweri, Yamini, Okadi, Yakini, Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani. Leevi ne Batabani be: Gerusoni, Kokasi, ne Merali. Yuda ne batabani be: Eri, Onani, Seera, Pereezi, ne Zeera; naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli. Isakaali ne batabani be: Tola, Puva, Yobu, ne Simuloni. Zebbulooni ne batabani be: Seredi, Eroni, ne Yaleeri. Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, wamu ne muwala we Dina; abaana be bonna abasajja n'abakazi baali abantu asatu mu basatu (33). Batabani ba Gaadi: Zifiyooni, Kagi, Suni, Ezeboni, Eri, Alodi, ne Aleri. Batabani ba Aseri: Imuna, Isuva, Isuvi, Beriya, ne Seera mwannyinaabwe; ne batabani ba Beriya: Keberi, ne Malukiyeeri. Abo ekkumi n'omukaaga (16), lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Zirupa, omuzaana Labbani gwe yawa Leeya muwala we. Batabani ba Laakeeri mukazi wa Yakobo: Yusufu ne Benyamini. Mu nsi y'e Misiri, Asenansi, muwala wa Potifari, kabona w'e Oni yazaalira Yusufu abaana ab'obulenzi babiri: Manase ne Efulayimu. Ne batabani ba Benyamini: Bera, Bekeri, Asuberi, Gera, Naamani, Eki, Losi, Mupimu, Kupimu, ne Aludi. Abo ekkumi (10) n'abaana be batabani ba Laakeeri, be yazaalira Yakobo. Ne mutabani wa Ddaani: Kusimu. Batabani ba Nafutaali: Yazeeri, Guni, Yezeeri, ne Siremu. Abo omusanvu (7) lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Bira, omuzaana Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we. Ezzadde lya Yakobo lyonna eryagenda mu Misiri, lyali abantu nkaaga mu mukaaga (66), nga tobaliddeemu baka batabani be. Batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali babiri. Abantu bonna ab'omu nnyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri baali nsanvu (70). Yakobo n'atuma Yuda okumukulemberamu, agende eri Yusufu amusabe abasisinkane e Goseni. Awo ne batuuka mu nsi y'e Goseni. Yusufu n'ateekateeka eggaali lye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; n'amweyanjulira, n'amugwa mu kifuba, n'akaaba amaziga okumala ekiseera kinene. Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Kaakano naafa bulungi kubanga nkulabyeko ne mmanya ng'okyali mulamu.” Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti, “Ka ŋŋende mbuulire Falaawo nti, ‘Baganda bange n'ennyumba ya kitange abaali mu nsi y'e Kanani, batuuse ewange. Basajja basumba era abalunzi b'ebisolo; baleese endiga, ente, n'ebintu byabwe byonna.’ Awo Falaawo bw'alibayita n'ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ Mumuddangamu nti, ‘Ffe abaddu bo tuli balunzi okuva mu buto n'okutuusa kaakati, era ne bajjajjaffe bwe baali;’ mulyoke mutuule mu nsi ey'e Goseni; kubanga kya muzizo Abamisiri okubeera awamu n'abasumba.” Yusufu n'alyoka ayingira n'agamba Falaawo nti, “Kitange ne baganda bange, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse nga bava mu nsi ya Kanani, era kati bali Goseni.” N'alonda ku baganda be abasajja bataano, n'abaleetera eri Falaawo. Falaawo n'ababuuza nti, “Mukola mulimu ki?” Ne baddamu Falaawo nti, “Abaddu bo tuli basumba nga bajjajjaffe bwe baali.” Ne bagamba Falaawo nti, “Tuzze okutuula mu nsi eno; kubanga enjala nnyingi mu nsi ya Kanani, so tewali muddo gwa kuliisa bisibo byaffe. Kale kaakano tukwegayiridde kiriza abaddu bo batuule e Goseni.” Falaawo n'agamba Yusufu nti, “ Kitaawo ne baganda bo bazze gy'oli; ensi y'e Misiri eri mu maaso go; kale laba awasinga obulungi, e Goseni w'oba obatuuza; era oba omanyi ku bo ab'amagezi, bafuule abalunzi b'ente zange.” Awo Yusufu n'ayingiza Yakobo kitaawe, n'amwanjula eri Falaawo; Yakobo n'asabira Falaawo omukisa. Falaawo n'abuuza Yakobo nti, “Olina emyaka emeka?” Yakobo n'amuddamu nti, “Nnina emyaka kikumi mu asatu (130). Emyaka egyo gibadde mitono, era mibi, tegyenkana gya bajjajjange gye baawangaalanga.” Yakobo era n'asabira Falaawo omukisa, n'alyoka avaayo. Yusufu n'asenza kitaawe ne baganda be, n'abawa obutaka mu nsi ye Misiri, awasinga obulungi, e Lameseesi, nga Falaawo bwe yalagira. Yusufu n'aliisa kitaawe ne baganda be n'ab'ennyumba zaabwe zonna emmere. Enjala n'eba nnyingi nnyo mu nsi ye Misiri ne mu nsi ya Kanani, abantu n'okuzirika ne bazirika olw'enjala. Yusufu n'aguza eŋŋaano abantu bonna ab'omu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, n'akuŋŋaanya effeeza nnyingi, n'agiteeka mu ggwanika lya Falaawo. Effeeza yonna bwe yaggwaawo mu nsi y'e Misiri ne ya Kanani, Abamisiri bonna ne bagenda eri Yusufu, ne bamugamba nti, “Tuwe emmere tuleme kufa kubanga ffeeza etuweddeko.” Yusufu n'abaddamu nti, “Oba ng'effeeza ebaweddeko, muleete ensolo zammwe mbaweemu emmere.” Ne baleetera Yusufu ensolo zaabwe: embalaasi, endiga, ente n'endogoyi, n'abawamu emmere; n'abaliisa bwatyo okumala omwaka mulamba. Omwaka ogwaddirira, ne bajja nate eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tetujja kukukisa mukama waffe, effeeza yaffe yonna yaggwaawo, n'ebisibo byaffe byonna biweddewo, tewali kye tusigazza, okuggyako ffe ffennyini n'ettaka lyaffe. Totuleka kufa, n'ensi yaffe okuzikirira ng'olaba. Tugule, ffe n'ebibanja byaffe, otuweemu emmere. Tunaabanga baddu ba Falaawo, era n'ettaka lyaffe linaabanga lirye. Tuwe eŋŋaano ey'okulya n'ey'okusiga, tuleme kufa, era tulime, ensi yaffe ereme okuzika.” Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonna ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muntu ettaka lye, olw'enjala okuyitirira; ensi yonna n'efuuka ya Falaawo. Yusufu n'asengula abantu, n'abassa mu bibuga, n'abafuula abaddu, okuva ku nsalo ya Misiri emu, okutuuka ku ndala. Ettaka lya bakabona lyokka ly'ataagula kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga ku mugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kye baava balema okutunda ettaka lyabwe. Yusufu n'agamba abantu nti, “Ngulidde Falaawo ettaka lyammwe, nammwe ne mbaguliramu. Kale ensigo ziizo, ze munaasiga mu nnimiro zammwe. Bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu ekyokutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, eby'okusiga mu nnimiro n'okulya, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe.” Ne boogera nti, “Otuwonyezza okufa; kati tuli baddu ba Falaawo.” Yusufu n'ateeka etteeka eryo mu nsi y'e Misiri erikyaliwo ne leero; Falaawo okuweebwanga ekitundu ekyokutaano, naye ettaka lya bakabona lyokka lyeritaafuuka lya Falaawo. Isiraeri n'abaana be ne batuula mu nsi ey'e Goseni, ne bagaggawala, ne bazaala abaana ne baala. Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu (17) ng'asenze mu nsi ey'e Misiri; emyaka gyonna Yakobo gye yawaangala gyali kikumi mu ana mu musanvu (147). Awo Isiraeri bwe yali ng'anaatera okufa n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti, “Nkwegayiridde kkiriza kaakano, oteeke ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange ondayirire nti tolinziika mu Misiri. Bwe mba nga nfudde onzigyanga mu Misiri n'onziika ku butaka bwa bajjajjange.” Yusufu n'addamu nti, “Ndikola nga bw'oyogedde.” Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira.” N'amulayirira. Isiraeri n'avuunama emitwetwe n'asinza. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti, “Kitaawo mulwadde,” n'atwala batabani be bombi, Manase ne Efulayimu. Ne bagamba Yakobo nti, “Omwana wo Yusufu azze okukulaba.” Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda. Yakobo n'agamba Yusufu nti, “Katonda Omuyinza w'ebintu byonna yandabikira e Luzzi mu nsi ya Kanani, n'ampa omukisa, n'aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno, okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe.’ Ne kaakano batabani bo bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnajja eno gy'oli mu Misiri, bange. Efulayimu ne Manase banaabanga bange, nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali. Abaana b'olizaala okudda ku bano be baliba ababo, era obusika balibufunira ku baganda baabwe abo. Nange, bwe nnali nva mu Padani, Laakeeri n'anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga wakyasigaddeyo ebbanga ddeneko okutuuka e Efulansi; ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda e Efulasi, ye Besirekemu.” Isiraeri n'alaba abaana ba Yusufu, n'amubuuza nti, “Bano be baani?” Yusufu n'addamu kitaawe nti, “Be baana bange, Katonda be yampeera wano mu Misiri.” N'amugamba nti, “Nkwegayiridde Baleete mbasabire omukisa.” Era amaaso ga Isiraeri gaali gayimbadde olw'obukadde, nga takyalaba bulungi. Yusufu n'abamusembereza; Isiraeri n'abawambaatira, n'abanywegera. Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Nali sisuubira kuddayo kukulabako; naye kaakano Katonda andabisizza ne ku baana bo.” Yusufu n'abaggya mu maviivi ga Isiraeri n'alyoka avuunama ku ttaka. Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiraeri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali. Naye Isiraeri n'agolola emikono gye n'agigombeza; ogwa ddyo n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu omuto, ogwa kkono n'agussa ku mutwe gwa Manase omukulu. N'asabira Yusufu omukisa n'ayogera nti, “Katonda wa bajjajjange Ibulayimu ne Isaaka gwe baaweerezanga, Katonda andabiridde ennaku zange zonna okutuusa leero; malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe abalenzi omukisa. Erinnya lyange, n'erya jjajjange Ibulayimu ne kitange Isaaka gatuumibwenga mu bo, era bafuuke ekibiina ekinene mu nsi.” Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga; n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase. Yusufu n'agamba kitaawe nti, “Nedda, kitange; Manase ye mubereberye; ssa omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe.” Kitaawe n'agaana n'ayogera nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi; Manase alifuuka ggwanga, era aliba mukulu; naye muto we ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye lirivaamu amawanga amangi.” N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti, “Mu Isiraeri bwe banaabanga basabira omuntu omukisa, banaakozesanga amannya gammwe, nga bagamba nti, ‘Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase.’ ” Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Laba nnaatera okufa, naye Katonda anaabanga wamu nammwe, era alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe. Isiraeri n'agamba Yusufu nti naye ggwe, nkwongeddeko omugabo gumu okusinga baganda bo, kye kitundu ky'e Sekemu kye nnawamba ku ba Amoli nga nkozesa ekitala n'omutego gwange.” Yakobo n'ayita batabani be, n'ayogera nti, “Mukuŋŋaane mbategeeze ebiribatuukako gye bujja. “Mukuŋŋaane, muwulire, mmwe batabani ba Yakobo; Muwulire Isiraeri kitammwe. Lewubeeni, ggwe mwana wange omubereberye, ow'obuvubuka bwange, era amaanyi gange mwe gaasookera; Asinga amalala n'okwekulumbaza Atafugika ng'amazzi agawaguzza; toliba mukulu; Kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo; N'okigwagwawaza, Weebaka mu buliri bwange. Simyoni ne Leevi ba luganda; Ebitala byabwe bya kulwanyisa bya maanyi. Ggwe emmeeme yange, tojjanga mu lukiiko lwabwe; Ggwe ekitiibwa kyange, teweegattanga n'ekibiina kyabwe; Kubanga olw'obusungu bwabwe batta omusajja, N'olw'eddalu lyabwe baatema ente olunywa. Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; N'obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima; Ndibaawula mu Yakobo, Ndibasaasaanya mu Isiraeri. Yuda, ggwe baganda bo banaakutenderezanga; Omukono gwo gunaabanga ku bulago bw'abalabe bo; Abaana bakitaawo banaakuvuunamiranga. Yuda, olinga omwana gw'empologoma; Okomyewo mwana wange, ng'ova okuyigga. Yakutama, yabwama ng'empologoma ensajja, Oba ng'empologoma enkazi; ani anaagisaggula? Omuggo ogw'obwakabaka teguveenga mu Yuda, Era bazzukulu be banaafuganga Okutuusa Siiro lw'alijja, Era oyo abantu gwe banaawuliranga. Alisiba omwana w'ensolo ye ku muzabbibu, N'omwana w'endogoyi ye ku muzabbibu ogusinga obulungi; Ayoza ebyambalo bye mu mwenge omumyufu ogw'ezzabbibu; Amaaso ge ganaamyukanga n'omwenge, N'amannyo ge ganaatukulanga n'amata. Zebbulooni anaatuulanga ku lubalama lw'ennyanja; Anaabanga omwalo ogw'amaato; N'ensalo ye eneebanga ku Sidoni. Isakaali ye ndogoyi erina amaanyi, Egalamira awali ebisibo by'endiga: N'alaba okuwummula nga kulungi, N'ensi nga ya kwesiima; N'akutamya ekibegabega kye okwetikka, N'afuuka omuddu akakibwa okukola emirimu. Ddaani, ng'ekimu ku bika bya Isiraeri, anaasaliranga abantu be emisango, Ddaani anaabanga omusota mu luguudo, Embalasaasa mu kkubo, Eruma embalaasi ebinuulo, agyebagadde n'awanukako n'agwa. Nindiridde obulokozi bwo, ayi Mukama. Gaadi, ekibiina kirimunyigiriza; Naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe. Ettaka lya Aseri linaabanga ggimu eribaza emmere. Anaaleetanga enva ennungi eza kabaka. Nafutaali ye mpeewo etaayaaya ezaala abaana bayo abalungi. Yusufu gwe muti ogubala ennyo. Oguli okumpi n'ensulo y'amazzi; Amatabi gaagwo gaagaagalidde waggulu w'ekisenge. Abalasa obusaale baamunakuwaza nnyo, Baamulasa, baamuyigganya; Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi, N'emikono gye ne giweebwa amaanyi, agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo Omusumba era olwazi Isiraeri. Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga, Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa, Omukisa oguva mu ggulu waggulu, N'omukisa oguva wansi mu nnyanja, N'omukisa ogw'okuzaala n'okuyonsa Omukisa gwa kitaawo Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajjange Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero ey'ensozi ezitaliggwaawo; Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu Ne ku bwenyi bw'oyo eyayawulibwa okuva ku baganda be. Benyamini gwe musege ogunyaga; Enkya anaalyanga omuyiggo, Era akawungeezi anaagabanga omunyago.” Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri (12); n'ebigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu kubo omukisa ogwamusaanira. Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti, “Bwe ndifa muntwalanga ku butaka, ne mu nziika awali bajjajjange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, eri e Makupeera, mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro, okuba obutaka obw'okuziikangamu. Eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya. Ennimiro n'empuku egirimu, byagulibwa ku baana ba Keesi.” Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'agalamira ku kitanda kye, n'assa omukka gwe ogw'enkomerero. N'atwalibwa eri abantu be. Yusufu n'agwa ku kitaawe n'akaaba nnyo, n'amunywegera. Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe. Abasawo ne bamukalirira Isiraeri. Ne bamala ennaku ana (40) nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwezaalinga. Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu (70) nga bamukungubagira. Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti, “Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, muŋŋambire Falaawo nti Kitange yandayiza ng'ayogera nti, ‘Bwe nfanga munziikanga mu ntaana gye nneesimira eri mu nsi ya Kanani.’ Kale kaakano nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende nziike kitange, nkomewo.” Falaawo n'ayogera nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.” Yusufu n'agenda okuziika kitaawe; n'abaddu bonna aba Falaawo, n'abakungu ab'omu nnyumba ye n'ab'omu nsi ey'e Misiri ne bagenda naye. Ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be, n'ennyumba ya kitaawe nabo ne bagenda; okuggyako abaana baabwe abato, endiga n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu kitundu ky'e Goseni. Awo Yusufu n'agenda n'ab'amagaali, n'abeebagadde ku mbalaasi; ekibiina ne kiba kinene nnyo. Ne batuuka ku gguuliro lye Atadi eriri emitala wa Yoludaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi nnyo. Yusufu n'amala ennaku musanvu (7) ng'akaabira kitaawe. Abantu ab'omu nsi y'e Kanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguuliro lye Atadi, ne boogera nti, “Abamisiri nga bakaaba nnyo!” Ekifo ekyo kye kyava kituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani. Abaana ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. Bwe batyo abaana be ne basitula omulambo gwa kitaabwe ne bagutwala mu nsi ya Kanani, ne baguziika mu mpuku eri mu nnimiro y'e Makupeera ebuvanjuba bwa Mamule. Ibulayimu yagula empuku awamu n'ennimiro ku Efulooni Omukiiti, okuba obutaka obw'okuziikangamu. Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe, n'addayo mu Misiri wamu ne baganda be, ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe. Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amaze okufa, ne boogera nti, “Mpozzi Yusufu ajja kutukyawa, yeesasuze obubi bwonna bwe twamukola.” Ne batumira Yusufu nga boogera nti, “Kitaffe bwe yali nga tannafa, yatugamba tukugambe nti, ‘Sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi.’ Naffe kaakano tukwegayiridde sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebigambo ebyo. Awo baganda be ne bajja ne bavuunama mu maaso ge, ne bagamba nti, “Kaakano tuli baddu bo.” Yusufu n'abagamba nti, “Temutya, nze ssiri mu kifo kya Katonda okubabonereza.” Nammwe, mwayagala okunkolako obubi, naye Katonda n'ankolera ebirungi nga bwe kiri kaakano, asobole okuwonya abantu abangi okufa. Kale kaakano temutya; nnaabalabiriranga mmwe n'abaana bammwe abato. Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo ebyo eby'ekisa. Yusufu n'atuulanga mu Misiri ye n'ennyumba ya kitaawe; n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi (110). Yusufu n'alaba ku baana ba Efulayimu, abazzukulu bannakasatwe; era n'aleera ku baana ba Makiri mutabani wa Manase. Yusufu n'agamba baganda be nti, “Ndi kumpi kufa, naye Katonda talirema kubajjira n'abaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo.” Awo Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'abagamba nti, “Katonda talirema kubajjira, era nammwe mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.” Bw'atyo Yusufu n'afa, ng'awezezza emyaka kikumi mu kkumi (110). Ne bamukalirira, ne bamuteeka mu ssanduuko mu Misiri. Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaayingira mu Misiri ne Yakobo n'ab'omu nnyumba zaabwe. Lewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda; Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini; Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri. Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu (70). Naye ye Yusufu yali yabeera dda mu Misiri. Yusufu, ne baganda be bonna, n'ab'omu mulembe ogwo gwonna ne bafa. Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera obungi, ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula mu nsi yonna ey'e Misiri. Awo kabaka omuggya ataamanya Yusufu, n'alya obwakabaka. N'agamba abantu be nti, “Mulabe, abaana ba Isiraeri bangi nnyo, era ba maanyi okutusinga; kale tubasalire amagezi, baleme okweyongera obungi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe okutulwanyisa era n'okututolokako.” Kyebaava babateekako ababakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emizibu ennyo. Ne bazimbira Falaawo Pisomu ne Lamusesi, okuba ebibuga eby'amaterekero. Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya abaana ba Isiraeri, n'abaana ba Isiraeri gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne banakuwala nnyo olw'abaana ba Isiraeri; ne babatuntuza nnyo n'emirimu egy'amaanyi, ne bakaluubiriza obulamu bwabwe n'emirimu emizibu, egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga n'amaanyi mu nsuku ne mu nnimiro zaabwe nga tebabasaasira. Awo Kabaka w'e Misiri n'agamba Sifira ne Puwa, abaazaalisanga Abaebbulaniya nti, “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga, naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.” Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu. Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo, okuleka abaana ab'obulenzi nga balamu?” Abazaalisa ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga bo b'amaanyi, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga baamaze dda okuzaala.” Katonda n'awa abazaalisa abo omukisa; abaana ba Isiraeri ne beeyongera obungi, ne baba baamaanyi nnyo. Olw'okubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana. Falaawo n'alagira abantu be bonna, n'abagamba nti, “Buli mwana ow'obulenzi alizaalibwa Omwebbulaniya mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.” Awo omusajja ow'omu kika kya Leevi n'agenda n'awasa omukazi ow'omukika kya Leevi. Omukazi n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; naye bwe yamulaba nga mulungi, n'amukwekera emyezi esatu. Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'aleeta ekibaya eky'ebitoogo n'akisiiga ettosi n'envumbo; omwana n'amuteeka munda, n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga. Mwannyina w'omwana n'ayimirira walako alabe, ekinaamutuukako. Awo muwala wa Falaawo n'aserengeta ku mugga okunaaba; abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga; ye n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta. Muwala wa Falaawo n'akisumulula, n'alaba omwana; omwana n'akaaba. N'amusaasira, n'agamba nti, “Ono ye omu ku baana b'Abaebbulaniya.” Awo mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana oyo?” Muwala wa Falaawo n'amugamba nti, “Kale genda.” Omuwala n'agenda n'amuyitira nnyina w'omwana. Muwala wa Falaawo n'amugamba nti, “Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo.” Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa. Awo omwana bwe yakula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'amufuula omwana we, n'amutuuma erinnya Musa. Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda eri baganda be Abaebbulaniya; n'alaba okutuntuzibwa kwabwe. N'alaba Omumisiri ng'akuba Omwebbulaniya, ow'omu baganda be. N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka atta Omumisiri, n'amukweka mu musenyu. Awo ku lunaku olwokubiri n'addayo, n'alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana, n'agamba oyo eyakola obubi nti, “Kiki ekikukubizza munno?” Omusajja n'amuddamu nti, “Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?” Musa n'atya n'agamba mu mutima gwe nti, “Mazima abantu baategedde kye nnakoze.” Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okutta Musa. Naye Musa n'adduka Falaawo, n'abeera mu nsi ya Midiyaani. Awo lwali lumu, Musa bwe yali ng'atudde okumpi n'oluzzi, abawala musanvu (7) aba kabona w'e Midiyaani ne bajja okusena amazzi, ne bajjuza ebyesero okunywesa endiga n'embuzi za kitaabwe. Abasumba ne bajja ne babagoba; naye Musa n'asituka n'abayamba, n'anywesa ekisibo kyabwe. Bwe bajja eri Leweri kitaabwe, n'ayogera nti, “Nga mukomyewo mangu leero?” Ne boogera nti, “Omuntu Omumisiri yatuwonyezza mu mikono gy'abasumba, n'atusenera amazzi, n'anywesa ekisibo.” N'agamba bawala be nti, “Ali ludda wa? Kiki ekibalesezzaayo omuntu oyo? Mumuyite ajje alye ku emmere.” Musa n'akkiriza okubeera ne Leweri; n'awa Musa, muwala we Zipola. Zipola n'azaala omwana ow'obulenzi, Musa n'amutuuma erinnya Gerusomu; kubanga yagamba nti, “Nali mugenyi mu nsi etali yange.” Nga wayiseewo emyaka mingi, kabaka w'e Misiri n'afa, naye abaana ba Isiraeri ne basigala nga basinda olw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. Katonda n'awulira okusinda kwabwe, n'ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. Katonda n'alaba okubonaabona kw'abaana ba Isiraeri, n'abasaasira. Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w'e Midiyaani; n'atwala ekisibo n'akiyisa mu ddungu, n'atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu. Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka. Musa n'alaba ekisaka ekyo nga kyaka omuliro, naye nga tekisiriira. Musa n'ayogera nti, “Kansembere nnetegereze ekintu kino ekikulu, ndabe ekigaana ekisaka kino okusiriira.” Mukama bwe yalaba ng'asembera okwetegereza, n'amuyita ng'ayima wakati mu kisaka nti, “Musa, Musa!” Musa n'ayitaba nti, “Nze nzuuno!” N'ayogera nti, “Tosembera wano; ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu.” N'ayogera nate nti, “Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.” Musa ne yeebikka mu maaso, kubanga yatya okutunuulira Katonda. Mukama n'ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe olw'abo ababakozesa; ntegeeredde ddala okubonaabona kwabwe; era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, n'okubaggya mu nsi eyo, mbayingize mu nsi ennungi, era engazi, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; erimu kati Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi n'Abayebusi. Kale, kaakano, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi; era ndabye engeri Abamisiri gye bababonyaabonyaamu. Kale nno jjangu, nkutume eri Falaawo mu Misiri, oggyeyo abaana ba Isiraeri, abantu bange.” Musa n'agamba Katonda nti, “Nze ani agenda e Misiri eri Falaawo, okuggyayo abaana ba Isiraeri?” Katonda n'amugamba nti, “Mazima ndibeera wamu naawe; era kano ke kabonero akalikukakasa nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulinsinziza ku lusozi luno.” Musa n'agamba Katonda nti, “Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe yantumye eri mmwe;’ nabo balimbuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?” Katonda n'agamba Musa nti, “NINGA BWE NDI,” n'ayogera nti, “Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti, ‘NDI ye antumye eri mmwe.’ ” Katonda nate n'agamba Musa nti, Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti, “Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe, eryo lye linnya lyange emirembe n'emirembe, era bwe ntyo bwe nnajjukirwanga emirembe gyonna. Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri bonna, obagambe nti, Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira n'aŋŋamba nti, ‘Nzize gye muli, era ndabye okubonaabona kwammwe mu Misiri.’ Mmaliridde okubaggya mu kubonaabona okw'e Misiri mbayingize mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki.” “Balikkiriza by'olibagamba era ggwe n'abakadde ba Isiraeri ne mulyoka mugenda eri Kabaka w'e Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya yatulabikira; kale nno, tukkirize tukwegayiridde, tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’ Era mmanyi nti kabaka w'e Misiri talibakkiriza kugenda, okuggyako ng'awalirizibbwa n'omukono ogw'amaanyi. Nange ndikozesa obuyinza bwange ne nkola eby'amagero mu Misiri okugibonereza; ebyo bwe biriggwa, alibaleka okugenda. Abaisiraeri ndibawa okwagalibwa Abamisiri, era temulivaayo ngalo nsa. Buli mukazi Omuisiraeri aligenda eri mulirwaana we Omumisiri n'eri buli mukazi Omumisiri, gw'abeera naye mu nnyumba, n'abasaba engoye n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu. Mulibitikka batabani bammwe ne bawala bammwe; bwe mutyo bwe mulitwala obugagga bw'Abamisiri.” Musa n'addamu nti, “Tebalinzikiriza era tebaliwulira bigambo byange; kubanga baligamba nti, ‘Mukama teyakulabikira.’ ” Mukama n'amugamba nti, “Kiki ekiri mu mukono gwo?” N'addamu nti, “Muggo.” N'amugamba nti, “Gusuule wansi.” N'agusuula wansi, ne gufuuka omusota; Musa n'agudduka. Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo;” n'agolola omukono gwe, n'agukwata, ne gufuuka omuggo nate. Olikola ekyo balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira. Mukama n'amugamba nate nti, “Teeka omukono gwo mu kifuba kyo.” N'ateeka omukono gwe mu kifuba kye; bwe yaguggyaamu, laba, omukono gwe nga guliko ebigenge ebyeru ng'omuzira Mukama n'amugamba nate nti, “Omukono gwo guzze mu kifuba kyo.” N'aguzza mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba ng'ebigenge biweddeko ng'afuuse ng'omubiri gwonna. Awo olulituuka bwe batalikukkiriza kukuwulira ku kabonero ak'olubereberye, kale balikukkiriza ku kabonero ak'okubiri. Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira by'obagamba, kale olisena ku mazzi g'omugga Kiyira n'ogayiwa ku lukalu; amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omusaayi ku lukalu. Musa n'agamba Mukama nti, “Ayi Mukama siri mwogezi mulungi okuva ddi na ddi, wadde okuva lwe watandise okwogera nange; kubanga soogera mangu, era n'ebigambo byange si bingi.” Mukama n'amubuuza nti, “Ani eyakola akamwa k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba kiggala oba alaba, oba muzibe? Si nze Mukama? Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu naawe, ndikusobozesa okwogera era ndikutegeeza by'olyogera.” Musa n'addamu nti, “Ayi Mukama, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.” Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti, “Alooni muganda wo, Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga ayinza okwogera obulungi. Era, laba, wuuyo ajja okukusisinkana; bw'anaakulaba ajja kusanyuka. Kale ggwe onooyogeranga naye, n'omutegeeza by'anaayogeranga. Nange nnaabasobozesaga mmwembi okwogera, era nnaabategeezanga bye munaakolanga. Alooni ye anaabeeranga omwogezi wo, anaakwogereranga eri abantu. Naawe olimubeerera nga Katonda, ng'omutegeeza by'anaayogeranga. Twala omuggo guno, gw'olikozesaza eby'amagero.” Awo Musa n'addayo eri Yesero kitaawe wa mukazi we. N'amugamba nti, “nkwegayiridde, kanzireyo e Misiri eri baganda bange, ndabe nga bakyali balamu.” Yesero n'agamba Musa nti, “Genda mirembe.” Musa bwe yali ng'akyali mu Midiyaani, Mukama n'agamba nti, “ddayo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta baafa dda.” Musa n'atwala omuggo gwa Katonda, ne mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'e baddayo e Misiri Mukama n'agamba Musa nti, “Bw'otuukanga e Misiri okolanga eby'amagero byonna bye nkulaze mu maaso ga Falaawo. Nange ndikakanyaza omutima gwe n'attakkiriza bantu kugenda. Naawe oligamba Falaawo nti, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Isiraeri ye mwana wange, omubereberye; nkugambye nti leka omwana wange ampeereze; naawe ogaanyi okumuleka; laba, nange nditta omwana wo omubereberye wo.’ ” Awo bwe baali bakyali mu lugendo nga bali mu kifo we baasula, Mukama n'asisinkana Musa n'ayagala okumutta. Awo Zipola, mukazi wa Musa n'addira ejjinja ery'obwogi n'akomola omwana we, ekikuta n'akiyisa ku bigere bya Musa, n'agamba nti, “oli baze wa musaayi!” Mukama n'amuleka. Awo Zipola n'ayogera nate nti, “Oli baze wa musaayi olw'okukomola.” Mukama n'agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu osisinkane Musa.” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera. Musa n'abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yamutuma, n'eby'amagero byonna bye yamulagira okukola. Musa ne Alooni ne bagenda ne bakuŋŋaanya abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri. Alooni n'abategeeza ebigambo byonna Mukama bye yagamba ne Musa, n'akola eby'amagero mu maaso g'abantu. Abantu ne bakkiriza; bwe baawulira nti Mukama yalabikira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bavuunama emitwe gyabwe, ne basinza. Awo oluvannyuma Musa ne Alooni ne bajja ne bagamba Falaawo nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti, ‘Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.’ ” Falaawo n'abuuza nti, “Mukama ye ani, nze okuwulira by'agamba okuleka Isiraeri okugenda? Nze Mukama simumanyi, era ne Isiraeri sijja kumuleka kugenda.” Musa ne Alooni ne bagamba nti, “Katonda wa Baebbulaniya ye yatulabikira; tukwegayiridde tuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe aleme okututta ne kawumpuli oba n'ekitala.” Kabaka w'e Misiri n'agamba Musa ne Alooni nti, “Lwaki muggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeyo ku mirimu gyammwe.” Falaawo n'ayogera nti, “Laba, abantu ab'omu nsi bangi kaakano, nammwe mubaggya ku mirimu gyabwe.” Ku lunaku olwo Falaawo n'alagira abakozesa abantu n'abakulu baabwe, ng'ayogera nti, “Mulekere awo okuwa abantu essubi ery'okukozesa amatoffaali nga bulijjo; bo bennyini bagende balyekuŋŋaanyize. N'omuwendo gw'amatoffaali, ge babumba bulijjo, gusigale nga bwe guli, temugukendeezaako n'akatono; kubanga bagayaavu; kyebaava basaba nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ Abantu baweebwe emirimu emikakali bagikole; baleme okuwuliriza ebigambo eby'obulimba.” Abakozesa abantu ne bavaayo n'abakulu baabwe, ne bagamba abantu nti, “Falaawo alagidde nti, ‘Temukyaweebwanga ssubi nate. Mmwe bennyini mugende mweretere essubi gye munaalisanga yonna, naye omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba tegujja kusalibwako n'akatono.’ ” Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okunoonya essubi Abakoza baabwe ne babakubiriza nti, “Mutuukirize omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba ogwa buli lunaku nga bwe mwakolanga nga mukyaweebwa essubi.” Abakozesa ba Falaawo ne bakuba abakulu b'abaana ba Isiraeri, nga bababuuza nti, “Lwaki jjo ne leero temwatuukirizza muwendo ogw'amatoffaali nga bulijjo.” Abakulu b'abaana ba Isiraeri ne bajja ne bakaabira Falaawo, ne bagamba nti, “Lwaki otuyisa bw'otyo ffe abaddu bo? Tetukyaweebwa ssubi, ate batugamba okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bulijjo, ate tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo.” Falaawo n'abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu, kye muva mwogera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ Kale kaakati mugende mubumbe amatoffaali, era temujja kuweebwa ssubi; kyokka muteekwa okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bwe mubadde mukola.” Abakulu b'abaana ba Isiraeri ne balaba ng'obuzibu bweyongedde, bwe baabagamba nti, “Temujja kukendeeza n'akatono ku muwendo gw'amatoffaali ogwa buli lunaku.” Bwe baava ewa Falaawo ne basisinkana Musa ne Alooni nga babalindiridde. Ne bagamba Musa ne Alooni nti, “Mukama atunuulire kye mukoze, asale omusango, kubanga mutukyayisizza mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaweereza be, ne mubawa kye baneekwasa batutte.” Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti, “Ayi Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze? Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bo; so naawe tobawonyezza n'akatono!” Mukama n'agamba Musa nti, “Kaakano onoolaba bye n'akola Falaawo; nja kukozesa obuyinza bwange muwalirize abaleke, ajja kubagoba bugobi mu nsi ye.” Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti, “NZE YAKUWA. N'alabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye ssaabamanyisa linnya lyange erya YAKUWA. Ne nyweza nate endagaano yange nabo, ey'okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng'abagwira. Nate ne mpulira okusinda kw'abaana ba Isiraeri, Abamisiri be baafuula abaddu; ne njijukira endagaano yange. Kale nno tegeeza abaana ba Isiraeri nti, ‘Nze Yakuwa ndibanunula era ndibaggyako okubonyaabonyezebwa n'obuddu bw'Abamisiri, era Abamisiri ndibabonereza n'obuyinza bwange, naye mmwe ne mbanunula. Ndibafuula eggwanga lyange, ne mbeera Katonda wammwe, nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe abanunudde okuva mu kubonyaabonyezebwa kw'Abamisiri. Ndibayingiza mu nsi eri, gye nneerayirira okuwa, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa mmwe okubeera obutaka. Nze Yakuwa.’ ” Naye Musa ne batamukkiriza kubanga mu mitima gyabwe baali baterebuse olw'okubonyabonyezebwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu. Mukama n'agamba Musa nti, “Genda ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.” Musa n'agamba Mukama nti, “ Oba nga abaana ba Isiraeri tebampulidde; Kale Falaawo anaampulira atya nze atali mwogezi mulungi?” Mukama n'alagira Musa ne Alooni nti, “Mugambe abaana ba Isiraeri ne Falaawo kabaka w'e Misiri, nti ndagidde mmwe okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri.” Bano be bakulu be nnyumba za bajjajjaabwe: abaana ba Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri be bano: Kanoki, Palu, Kezulooni, ne Kalumi; mu abo mwe muva ekika kya Lewubeeni. Abaana ba Simyoni be bano: Yemweri, Yamini, Okadi, Yakini, Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani; mu abo mwe muva ekika kya Simyoni. Gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe: Gerusoni, Kokasi, ne Merali. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137). Abaana ba Gerusoni be bano: Libuni ne Simeeyi ng'ennyumba yabwe bw'eri. N'abaana ba Kokasi be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri. Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu (133). Abaana ba Merali be bano: Makuli ne Musi. Abo bonna be bo mu kika kya Leevi mu mirembe gyabwe. Amulaamu yawasa Yokebedi ssenga we; n'amuzaalira Alooni ne Musa. Amulaamu n'awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137). Bano be baana ba Izukali: Koola, Nefega, ne Zikiri. Bano be baana ba Wuziyeeri: Misaeri, Erizafani, ne Sisiri. Alooni yawasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu, muganda wa Nakaisoni; n'amuzaalira Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. Abaana ba Koola be bano: Asira, Erukaana, ne Abiyasaafu; eyo ye nnyumba ya Koola. Eriyazaali, omwana wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo be bakulu b'ennyumba ab'omu kika kya Leevi. Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri.” Abo be baagamba Falaawo kabaka w'e Misiri aleke abaana ba Isiraeri bave mu Misiri. Ku lunaku Mukama lwe yayogera ne Musa mu nsi y'e Misiri, n'agamba Musa nti, “Nze Mukama; tegeeza Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.” Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, nze siri mwogezi mulungi, Falaawo anaampulira atya?” Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda eri Falaawo; era Alooni muganda wo alibeera nnabbi wo. Olyogera buli kye nkulagira; ne Alooni muganda wo aligamba Falaawo, aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye. Nange ndikakanyaza omutima gwa Falaawo, ne nnyongera obubonero n'okukola eby'amagero mu nsi y'e Misiri. Naye Falaawo talibawuliriza, nange ndikozesa amaanyi, ne nzigya abantu bange, abaana ba Isiraeri mu Misiri, nga maze okugibonereza ennyo. Kale Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndikozesa obuyinza bwange okubonereza Misiri ne nzigyayo abaana ba Isiraeri.” Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo; nga Mukama bwe yabalagira. Musa yali awezezza emyaka kinaana (80), ne Alooni ng'awezezza kinaana mu esatu (83), we baayogerera ne Falaawo. Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Falaawo bw'alibagamba nti, ‘Mukoleewo eky'amagero;’ awo n'olyoka ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gufuuke omusota.’ ” Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Alooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be, ne gufuuka omusota. Falaawo naye n'alyoka ayita abagezigezi n'abalogo Abamisiri; era nabo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama. Ne basuula emiggo gyabwe wansi ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. Omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. Mukama n'agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo mukakanyavu, kubanga agaanyi okuleka abantu okugenda. Kale enkya, genda eri Falaawo omusisinkane ng'agenda ku mugga, omulindirire ku mabbali g'omugga ng'okutte omuggo guli ogwafuuka omusota. Omugambe nti, ‘Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, antumye gy'oli ng'ayogera nti, Leka abantu bange, bagende mu ddungu bampeerereze;’ naye n'okutuusa kaakano ogaanyi okuwulira.” Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, “Ku kino kw'olimanyira nga nze Mukama: ndikuba amazzi agali mu mugga n'omuggo oguli mu mukono gwange, nago galifuuka omusaayi. Eby'omu nnyanja birifa, n'omugga guliwunya; n'Abamisiri tebaliyinza kunywa ku mazzi gaagwo.” Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogugololere ku mazzi g'e Misiri: ku migga gyabwe, ku myala gyabwe, ku bidiba byabwe ne ku nnyanja zaabwe zonna ez'amazzi, gafuuke omusaayi.’ Omusaayi gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri, mu ntiba ez'emiti ne mu nsuwa ez'amayinja.” Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira; n'ayimusa omuggo, n'akuba amazzi agaali mu mugga, mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be; amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi. Eby'omu mugga ne bifa; omugga ne guwunya, Abamisiri ne batayinza kunywa mazzi ga mugga Kiyira; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri. N'abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag'ekyama; Falaawo n'akakanyaza omutima gwe n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera. Falaawo n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye, ebyo n'atabissaako mwoyo. Abamisiri bonna ne basima okumpi n'omugga bafune amazzi ag'okunywa, kubanga amazzi ag'omugga Kiyira nga tebayinza kuganywako. Ne wayitawo ennaku musanvu, Mukama ng'amaze okukuba omugga. Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo, omugambe nti, Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, Leka abantu bange, bampeereze. Era bw'onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndibonereza ensi yo, ne ngijjuzaamu ebikere. Omugga gulijjula ebikere, ebiririnnya ne biyingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku buliri, ne mu nnyumba z'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo; eby'okugoyeramu. Ebikere birikulinnyako ggwe, ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna.” Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku myala, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri.’ ” Alooni n'agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri; ebikere ne birinnya ne bibikka ensi yonna ey'e Misiri. N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama, ne balinnyisa ebikere ku nsi y'e Misiri. Falaawo n'alyoka ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti, “Musabe Mukama anzigyeko ebikere nze n'abantu bange; nange nnaabaleka abantu, baweeyo ssaddaaka eri Mukama.” Musa n'agamba Falaawo nti, “Ntegeeza ekiseera nze mwe mba nkusabira ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo, ebikere bizikirizibwe bikuveeko, bive ne mu nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka.” N'ayogera nti, “Enkya.” Musa n'amuddamu nti, “Kibe nga bw'ogambye; olyoke otegeere nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe. N'ebikere binaakuvaako ggwe, n'ennyumba zo, n'abaddu bo, n'abantu bo; ne bisigala mu mugga mwokka.” Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo; Musa n'asaba Mukama aggyewo ebikere bye yaleetera Falaawo. Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba; ebikere ne bifiira mu nnyumba, mu mpya, ne mu nsuku. Ne bakunganya entuumo n'entuumo z'ebikere; ensi yonna n'ewunya. Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebikere biweddewo, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, efuuke ensekere zibune nsi yonna ey'e Misiri.’ ” Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo gwe n'akuba enfuufu y'ensi ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. Enfuufu yonna mu nsi ey'e Misiri n'efuuka ensekere. N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza. Ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti, “Eno ye ngalo ya Katonda.” Naye Falaawo n'akakanyaza omutima gwe, n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera. Mukama n'agamba Musa nti, “Golokoka enkya mu matulutulu ogende osisinkane Falaawo bw'anaaba ng'afuluma okugenda ku mugga, omugambe nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Leka abantu bange, bampeereze.’ Naye bw'otoobaleke, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo, ne mu nnyumba zo; ennyumba n'ebibanja by'Abamisiri birijjula ensowera. Nange ku lunaku olwo nditaliza ensi ey'e Goseni, abantu bange gye babeera, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke otegeere nga nze Mukama ali wakati mu nsi. Nange ndiraga enjawulo wakati mu bantu bange n'ababo; enkya akabonero kano lwe kanaabeererawo” Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera bingi ne bijja mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be; ne mu nsi yonna ey'e Misiri; ensi n'efaafaagana olw'ebikuukuulu by'ensowera. Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti, “Kale mugende muweeyo ssaddaaka eri Katonda wammwe nga muli mu nsi eno.” Musa n'ayogera nti, “Si kirungi okukola ekyo; kubanga tujja kuwaayo eri Mukama Katonda waffe eby'omuzizo mu Bamisiri. Bwe tunaawaayo eby'omuzizo ebyo ng'Abamisiri batulaba, tebaatukube amayinja ne batutta? Kale tuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira.” Falaawo n'ayogera nti, “Nnaabaleka, mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, wabula kino kyokka; temugenda wala nnyo. Nange munsabire.” Musa n'ayogera nti, “Bwe naava mu maaso go, enkya n'asaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwe ku Falaawo, ne ku baddu be, ne ku abantu be; wabula kino kyokka, Falaawo aleme okwongera okulimba nate okugaana abantu okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.” Musa n'ava mu maaso ga Falaawo, n'asaba Mukama. Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba; n'aggyirawo Falaawo, abaddu be, n'abantu be ebikuukuulu by'ensowera; ne watasigala n'emu. Falaawo n'akakanyaza omutima gwe omulundi ogwo nate, n'ataleka bantu kugenda. Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo omugambe nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Leka abantu bange bampeereze.’ Naye bw'onoogaana okubaleka okugenda, laba, omukono gwa Mukama gulireeta nsotoka omuzibu ennyo ku magana go agali ku ttale: ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga. Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri ku g'Abamisiri; so ku g'Abaisiraeri tekulifa n'emu.” Mukama n'assaawo ekiseera ng'ayogera nti, “Enkya lwenaakola ekyo mu nsi.” Mukama n'akola ekyo bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa; naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tekwafa n'emu. Falaawo n'atuma okubuuza ekibaddewo ku magana g'Abaisiraeri, ne bamutegeeza nti tekuli n'emu efudde. Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “ Mutwale embatu z'evvu ery'omu kyoto, Musa alimanse waggulu nga Falaawo alaba. Lirifuumuuka ng'enfuufu ku nsi yonna ey'e Misiri, ne lireeta amayute ku bantu ne ku nsolo mu nsi yonna ey'e Misiri; era amayute ago galyabika ne gafuuka amabwa.” Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne lireeta ku bantu ne ku nsolo amayute agayaabika, ne gafuuka amabwa. Abasawo ne batayinza kuyimirira mu maaso ga Musa kubanga nabo baali bajjudde amayute ng'Abamisiri abalala bonna. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa. Mukama n'agamba Musa nti, “Ogolokoka enkya ku makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Leka abantu bange, bagende bampeereze.’ Kubanga ku mulundi guno nja ku kubonereza nnyo ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo; olyoke omanye nga mu nsi yonna tewali afaanana nga nze. Kubanga kaakano nandikuleseeko kawumpuli ggwe, n'abantu bo ne muzikiririra ddala; naye kyenvudde nkulekawo ggwe, ndyoke nkulage amaanyi gange, era erinnya lyange liryoke ligulumizibwe mu nsi zonna. N'okutuusa kaakano okyagugubye, n'ogaana abantu bange okugenda? Laba, enkya nga mu kiseera kino n'atonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebaawo okutuusa kaakano. Kale kaakano lagira abaddu bo baggye mangu amagana go ku ttale; kubanga buli muntu, n'ensolo ebinaasigala ku ttale, ne bitayingizibwa mu nnyumba, omuzira gujja kubikuba gubitte.” Naye mu baddu ba Falaawo, buli eyatya ekigambo kya Mukama yaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba. Naye ataakitya yaleka abaddu be n'amagana ge ku ttale. Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ku nsuku ne ku bimera byonna eby'omu nnimiro.” Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu; Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi; Mukama n'atonnyesa omuzira ku nsi yonna ey'e Misiri. Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga. Omuzira ne gugwa ku nsi yonna ey'e Misiri ne gukuba buli ekyali ku ttale: omuntu, ensolo; omuddo, ne gumenya n'emiti. Mu nsi ey'e Goseni yokka, abaana ba Isiraeri mwe baali, mwe mutaali muzira. Falaawo n'atumya, Musa ne Alooni, n'abagamba nti, “Nnyonoonye omulundi guno; Mukama ye mutuukirivu, nze n'abantu bange tuli babi. Kale musabe Mukama akomye okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira; kubanga ebyo bimmaze; nange nnaabaleka mugende mangu.” Musa n'addamu nti, “Bwe nnaava mu kibuga, naayanjululiza Mukama ebibatu byange, okubwatuka ne kuggwaawo n'omuzira ne gulekeraawo; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama. Naye mmanyi nga ggwe n'abaddu bo temunnaba kutya Mukama Katonda.” (Obugoogwa ne sayiri byakubibwa omuzira, kubanga sayiri yali atandiikiriza okubala nga n'obugoogwa busansudde. Naye eŋŋaano ne kusemesi tebyakubibwa; kubanga byali nga tebinnamera). Musa bwe yava mu kibuga awali Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye; okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, n'enkuba n'eteyongera kutonnya ku nsi. Falaawo bwe yalaba ng'enkuba, n'omuzira, n'okubwatuka biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be. Falaawo n'akakanyaza omutima gwe n'ataleka baana ba Isiraeri kugenda, nga Mukama bwe yayogerera mu Musa. Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe; olyoke otegeeze abaana bo n'abazzukulu bo obubonero bwange bwe nkoze mu Misiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.” Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange, bampeereze. Naye, bw'onoogaana okuleka abantu bange okugenda, laba, enkya n'aleeta enzige mu nsi yo; ziribikka ensi ereme okulabika, zirirya byonna omuzira bye gwataliza n'emiti gyonna egy'omu nnimiro; era enzige zirijjula ennyumba zo, n'ezabaddu bo, n'ez'Abamisiri zonna; ziriba nnyingi nnyo, era nga bakitammwe ne bajjajjammwe tebazirabangako kasookedde ensi ebaawo.’ ” Musa n'akyuka, n'ava awali Falaawo. Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa wa okututawaanya? Leka abantu, bagende baweereze Mukama Katonda waabwe; tonnamanya nga Misiri yonna efaafaaganye?” Musa ne Alooni ne bakomezebwawo eri Falaawo; n'abagamba nti, “Kale mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe; naye b'ani abanaagenda nammwe?” Musa n'addamu nti, “Tunaagenda n'abaana baffe abato, ne bakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi, n'ab'obuwala, n'endiga n'ente zaffe; kubanga tuteekwa okukolera Mukama embaga.” Falaawo n'addamu nti, “ Ndayira Mukama, sijja kubaleka kugenda, mmwe n'abaana bammwe abawere; kirabika mulina olukwe lwe mutegeka. Nedda, mmwe abasajja abakulu mmwe muba mugenda muweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo. Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri enzige zigwe ku nsi yonna ey'e Misiri; zirye omuddo gwonna ne byonna omuzira bye gwalekawo.” Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku olwo, ezaakunta emisana n'ekiro; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba zaali zireese enzige. Enzige ne zigwa ku nsi yonna ey'e Misiri, zaali nnyingi nnyo, ezitalabwangako okuva edda n'edda lyonna, wadde oluvannyuma lwazo. Zaabikka ku nsi yonna ey'e Misiri, n'ekwata ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti omuzira bye gwalekawo; ne watasigala kikoola kyonna ku muti, newakubadde omuddo ogw'omu nnimiro mu nsi yonna ey'e Misiri. Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti, “Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, era nammwe. Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, era musabe Mukama Katonda wammwe, anzigyeko ekibonyoobonyo kino ekinene.” Musa n'ava eri Falaawo, n'asaba Mukama. Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu, newatasigala nzige n'emu mu nsi yonna ey'e Misiri. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atakkiriza baana ba Isiraeri kugenda. Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekikutte bezzigizigi.” Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba ku nsi yonna ey'e Misiri okumala ennaku ssatu. Abamisiri nga tebasobola kulabagana, era tewali yasobola okuva mu kifo mwe yali okumala ennaku ssatu, naye abaana ba Isiraeri bonna baalina ekitangaala yonna gye baali. Falaawo n'ayita Musa n'amugamba nti, “Mugende muweereze Mukama; endiga n'ente zammwe zisigale, naye abaana abawere mugende nabo.” Musa n'amuddamu nti, “Bwe kiba bwe kityo oba olina okutuwa ensolo n'ebiweebwayo ebyokebwa, bye tunaawaayo nga ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe. Naye tuteekwa okugenda n'amagana gaffe; waleme kusigalawo nsolo n'emu, kubanga tuteekwa okulondamu ensolo ezeetaagibwa mu kuweereza Mukama Katonda waffe. Naye tetumanyi nsolo ziryetaagibwa mu kuweereza Mukama, okutuusa nga tumaze okutuukayo.” Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atakkiriza kubaleka kugenda. Falaawo n'amugamba nti, “Vva we ndi, weekuume, oleme kuddayo kulabika mu maaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabika mu maaso gange ogenda kufa.” Musa n'amuddamu nti, “Oyogedde bulungi; sijja kuddayo kulabika mu maaso go.” Mukama n'agamba Musa nti, “Njakuleetera Falaawo ne Misiri ekibonyoobonyo kimu kyokka, n'oluvannyuma alibaleka ne mugenda; bw'alibaleka, alibagobera ddala okuva mu nsi muno. Kaakano gamba abantu, buli musajja asabe muliraanwa we, era na buli mukazi asabe muliraanwa we, ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.” Mukama n'awa Abaisiraeri okwagalibwa Abamisiri. Naddala Musa, ate ye yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri; mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu bonna. Musa n'agamba Falaawo nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Awo nga mu ttumbi ndiyita wakati mu Misiri; n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuusa ku mubereberye w'omuzaana asa ku lubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo. Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo era okutaliddamu kubaawo nga kuno nate. Naye mu baana ba Isiraeri tewaliba wadde embwa eboggolera omu kubo, wadde ensolo zaabwe; mulyoke mumanye Mukama bw'ayawula wakati w'Abamisiri n'Abaisiraeri.’ Era abaddu bo bano bonna balijja gye ndi, ne banvuunamira nga boogera nti, ‘Genda n'abantu bo bonna abakugoberera,’ era oluvannyuma ndigenda.” Musa n'ava eri Falaawo n'obusungu bungi. Mukama n'agamba Musa nti, “Falaawo talibawulira; eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri.” Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo; Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'ataleka baana ba Isiraeri kuva mu nsi ye. Mukama n'agamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti, “Omwezi guno gulibabeerera ogwolubereberye mu myezi; gulibabeerera omwezi ogwolubereberye ogw'omwaka. Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri nti, Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, balyetwalira mu buli nnyumba omwana gw'endiga gumu, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe ziri. Ennyumba bw'eneebeerangamu abantu abatono nga teemaleewo mwana gw'endiga omulamba, kale beegatte ku nnyumba ya mulirwaana waabwe, babalirwe ku muwendo gw'abantu abali mu nnyumba eyo, baliire wamu omwana gw'endiga. Omwana gw'endiga oba ogw'embuzi, guliba musajja oguwezezza omwaka, nga teguliiko bulema, muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno; olwo eya buli nnyumba eryoke ettibwe olw'eggulo ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kikuŋŋaanye. Era balitwala ku musaayi, bagusiige ku myango gy'enzigi ne waggulu, mu nnyumba mwe baliguliira.” “Awo balirya ennyama mu kiro ekyo, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezikaawa. Temugiryangako nga mbisi newakubadde enfumbe n'amazzi, wabula enjokye n'omuliro; n'omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo. Temugirekangawo okutuusa enkya; naye bwe walibaawo esigaddewo muligyokya n'omuliro. Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, nga mwambadde engatto, nga mukutte n'emiggo mu mikono gyammwe, mugiryanga mangu; kubanga okwo kwe kuliba okuyitako kwa Mukama. Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro ekyo, nditta ebibereberye byonna mu nsi ey'e Misiri, abantu era n'ensolo; era ndisalira bakatonda bonna ab'e Misiri emisango, Nze Mukama. Omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu; nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe mu mmwe olulibazikiriza bwe ndiyita mu nsi ey'e Misiri. Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, nammwe munaalukuumanga ng'embaga ya Mukama ey'etteeka eritaggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.” “Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olwolubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga buli alya emigaati egizimbulukusiddwa okuva ku lunaku olwolubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, anaaboolebwanga mu Isiraeri. Ku lunaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omusanvu mulibeera n'okukuŋŋaana okutukuvu. Temukolanga mirimu gyonna mu nnaku ezo, wabula egyo gyokka egyetaagisa okuteekateeka emmere gye munaalya.” “Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa; kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe nnaggyira ekibiina kya Isiraeri kyonna okuva mu nsi ey'e Misiri; kye munaavanga mwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna ng'etteeka eritaggwaawo. Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, mu mwezi ogwolubereberye olweggulo, mulirya emigaati egitazibulukusiddwa okutuusiza ddala ku lunaku olw'abiri mu olumu olweggulo. Mu nnaku ezo omusanvu ekizimbulukusa tekibeeranga mu nnyumba zammwe; kubanga buli muntu alirya ekizimbulukusiddwa, oba nzaalwa oba munnaggwanga, aliboolebwa mu kibiina kya Isiraeri. Temulyanga ekizimbulukusiddwa kyonna mu nnyumba zammwe zonna; wabula emigaati egitazimbulukusiddwa.” Musa n'alyoka ayita abakulembeze bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti, “Buli muntu alonde omwana gw'endiga oba ogw'embuzi, ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mugutte olw'okukwata okuyitako. Nammwe mulitwala akasaaganda ka ezobu ne mukannyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mugusiiga ku mwango, mu mbiriizi ne waggulu; omuntu yenna tafulumanga mu nnyumba ye okutuusa enkya. Kubanga Mukama aliyita okutta Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku mwango, mu mbiriizi ne waggulu, Mukama aliyita ku nnyumba eyo so talikkiriza muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubatta. Mulyekuuma etteeka lino, n'abaana bammwe abaliddawo ennaku zonna. Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, munaakwatanga embaga eno. Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘embaga eno etegeeza ki?’ Mulibaddamu nti, ‘Eno ye ssaddaaka etujjukiza okuyitako kwa Mukama, bwe yayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'atta Abamisiri, ffe n'atuwonya. Abantu ne bavunama ne basinza.’ ” Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni. Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'atta abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo ow'okutuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo. Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu. Falaawo n'ayita Musa ne Alooni ekiro ekyo, n'abagamba nti, “Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera. Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; nange munsabire omukisa.” Abamisiri ne bakubiriza Abaisiraeri banguwe okuva mu nsi; kubanga baayogera nti, “Ffenna tujja kufa, singa temugenda.” Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Musa bwe yabalagira; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye; Mukama n'awa Abaisiraeri okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa byonna bye baabasaba. Ne banyaga Abamisiri. Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Lameseesi okutuuka e Sukkosi. Baali abasajja obusiriivu mukaaga (600,000), abaatambula n'ebigere nga tobaze bakazi na baana. Era n'ekibiina kinene ekya bannamawanga ne kigenda nabo, n'endiga, n'ente, n'ebisibo bingi nnyo. Ne bafumba emigaati egitaliimu kizimbulukusa n'obutta bwe baggya e Misiri, kubanga tebaalina budde kussaamu kizimbulukusa, kubanga bagobebwa mangu okuva mu Misiri, era baali tebannaba kwefumbira mmere yonna. N'emyaka abaana ba Isiraeri gye baamala mu Misiri gyali bina mu asatu (430). Awo olwatuuka emyaka ebina mu asatu (430) bwe gyaggwako, ku lunaku olwo ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne kiryoka kiva e Misiri. Ekiro ekyo Mukama kye yaggyiramu abaana ba Isiraeri mu Misiri, munaakikwatanga mu mirembe gyammwe gyonna. Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna tagiryangako; naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okukomolebwa, n'alyoka agiryako. Munnaggwanga n'omuweereza aweebwa empeera tebagiryangako Eneeriirwanga mu nnyumba mw'ettiddwa. Temufulumyanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo, era temumenyanga ggumba lyayo. Ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaakwatanga embaga ey'okuyitako. Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okukwata embaga ey'okuyitako, bw'anaabanga omusajja anaamalanga kukomolebwa alyoke akwate embaga eyo; olwo anaabanga ng'enzaalwa; naye atali mukomole yenna tagiryangako. Linaabanga etteeka limu eri enzaalwa n'omugenyi asula omumwe.” Bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni. Awo ku lunaku olwo Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri ng'ebika byabwe bwe byali. Mukama n'agamba Musa, ng'ayogera nti, “Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo, ye wange.” Musa n'agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yabaggya mu kifo ekyo; tebalyanga ku migaati egizimbulukusibbwa. Ku lunaku luno, mu mwezi ogwa Abibu lwe munaavaamu. Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukusiddwa, era ku lunaku olw'omusanvu; wanaabanga embaga eri Mukama. Emigaati egitazimbulukusiddwa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukusibbwa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna. Era onoomugambanga omwana wo ku lunaku luli nti, ‘kino nkikola olw'ebyo mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri.’ Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo mu kyenyi kyo, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yakuggya mu Misiri. Kyonoovanga weekuuma etteeka lino mu biro byalyo buli mwaka, buli mwaka. “Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa, onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama. Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onooginyoolanga ensingo; era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga. Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti, ‘Kiki kino?’ Onoomugambanga nti, ‘Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu. Awo olwatuuka, olw'empaka za Falaawo, bwe yagaanira ddala okutuleka, Mukama kwe kutta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo; Mukama kyenva mmuwa buli kiggulanda ekisajja okuba ssaddaaka, naye ababereberye b'abaana baffe bonna tubanunula.’ N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, oba mu kyenyi kyo; kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri.” Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti, “Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri.” Naye Katonda neyeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu; abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina eby'okulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri. Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye; kubanga yabalayiriza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti, “Katonda talirema kubalabikira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe.” Ne bava mu Sukkosi nga batambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu. Mukama n'abakulembera emisana mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, era n'ekiro mu mpagi ey'omuliro okubaakira; balyoke batambule emisana n'ekiro; empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaavanga mu maaso g'abantu. Mukama n'agamba Musa, ng'ayogera nti, “Bagambe abaana ba Isiraeri badde emabega basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni; emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja. Falaawo aliboogerako abaana ba Isiraeri nti, ‘Bazingiziddwa mu nsi, eddungu libasibye.’ Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera emabega waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama.” Bwe batyo bwe baakola. Ne bagamba kabaka w'e Misiri nti abantu badduse; omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza?” N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye; n'atwala amagaali lukaaga (600) amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna. Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, kabaka w'e Misiri, n'agoberera abaana ba Isiraeri; kubanga abaana ba Isiraeri baafuluma n'okwewaana. Abamisiri ne babagoberera emabega, embalaasi zonna n'amagaali gonna aga Falaawo, n'ababe abeebagala embalaasi n'eggye lye, ne babatuukako nga basuze kumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pikakirosi, mu maaso ga Baalizefoni. Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera emabega waabwe; ne batya nnyo. Abaana ba Isiraeri ne bakaabirira Mukama. Ne bagamba Musa nti, “Kubanga tewali ntaana mu Misiri kyovudde otuleeta tufiire mu ddungu? Kiki ekikutukozezza bw'oti, okutuggya mu Misiri? Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti, ‘Tuleke tuweereze Abamisiri?’ Kubanga kirungi okuweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu.” Musa n'agamba abantu nti, “Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero; kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna. Mukama anaabalwanirira, nammwe munaasirika.” Mukama n'agamba Musa nti, “Kiki ekikunkaabiriza? Bagambe abaana ba Isiraeri bagende mu maaso. Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu; n'abaana ba Isiraeri banaayita wakati mu nnyanja nga ku lukalu. Nange, laba, nze ndibakakanyaza emitima Abamisiri, baliyingira okubagoberera; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala. Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.” Malayika wa Katonda, eyakulembera eggye lya Isiraeri, n'avaayo n'adda emabega waabwe; empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira emabega waabwe; n'ejja n'ebeera wakati w'eggye ly'e Misiri n'eggye lya Isiraeri; ne waba ekire n'ekizikiza, naye n'ereeta omusana ekiro, abo ne batabasemberera bali ekiro kyonna. Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu. Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu, amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono. Abamisiri ne bagoberera, ne bayingira emabega waabwe wakati w'ennyanja, embalaasi zonna eza Falaawo, amagaali ge, n'abantu be abeebagala. Awo olwatuuka mu kisisimuka eky'enkya Mukama n'atunuulira eggye ery'Abamisiri mu mpagi ey'omuliro n'ekire, ne yeeraliikiriza eggye ery'Abamisiri. N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa; Abamisiri ne boogera nti, “Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri.” Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.” Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja. Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja emabega waabwe; tewaasigala n'omu ku bo. Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono. Bw'atyo Mukama n'alokola Isiraeri ku lunaku olwo, mu mukono gw'Abamisiri; Isiraeri ne balaba Abamisiri nga bafudde ku mabbali g'ennyanja. Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne batya Mukama; ne bamukkiriza Mukama, n'omuddu we Musa. Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bayimbira Mukama oluyimba luno nti, “Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga. Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, Anfuukidde obulokozi bwange; Ono ye Katonda wange, nange ndimutendereza; Ye Katonda wa kitange, nange ndimugulumiza. Mukama ye muzira okulwana; Mukama lye linnya lye, Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja; N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu. Obuziba bubasaanikidde; Basse mu buziba ng'ejjinja. Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gwa kitiibwa, gwa maanyi, Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe. Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba; Obusungu bwo bubuubuuka, ne bubookya ng'ebisasiro. N'omukka ogw'omu nnyindo zo, amazzi gatumbiira. Gayimirira ne gakola ebisenge; Obuziba bw'ennyanja ne bwekwata ng'ekitole. Omulabe n'ayogera nti, ‘Naagoberera, n'atuuka, n'atwala omunyago Byenegomba byonna nja kubiggya kubo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza.’ Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira; Baasaanawo ng'ekyuma mu mazzi ag'amaanyi. Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda? Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuvu, Ow'entiisa mu kutenderezebwa, akola eby'amagero? Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, Ensi n'ebamira. Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula, N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu. Amawanga gaawulira, ne gakankana; Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti. Abakungu ab'omu Edomu ne balyoka beewuunya; Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu, okukankana ne kubakwata; Abatuula mu Kanani bonna bayenjebuka. Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be wanunula. Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo, Ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo, Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza. Mukama alifuga emirembe n'emirembe.” Embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge, n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja. Miryamu, nnabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina. Miryamu n'ayimba nti, “Muyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.” Musa n'akulembera Isiraeri okuva ku nnyanja emmyufu, ne batuuka mu ddungu ly'e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu, ne batalaba mazzi. Bwe baatuuka e Maala, ne batayinza kunywa ku mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa; Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Maala. Abantu ne beemulugunyiza Musa, nga boogera nti, “Tunaanywa ki?” Musa n'akaabirira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabaweera etteeka n'ebiragiro, n'abagereza eyo. N'ayogera nti, “Bw'oliwulirira ddala eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri; kubanga nze Mukama akuwonya.” Ne batuuka mu Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu; ne basula awo awali amazzi. Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri. Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni mu ddungu; abaana ba Isiraeri ne babagamba nti, “Waakiri olw'omukono gwa Mukama twandifiiridde mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatuleeta mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala.” Mukama n'alyoka agamba Musa nti, “Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu. Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku.” Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti, “Olweggulo lwe munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri; era enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza; naffe ffe baani, n'okwemulugunya ne mwemulugunyiza ffe?” Musa n'ayogera nti, “Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza; naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.” Musa n'agamba Alooni nti, “Gamba ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti, ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ” Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire. Mukama n'agamba Musa, ng'ayogera nti, “Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri; bagambe, ng'oyogera nti, ‘Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ” Awo olweggulo entiitiri ne ziggwa ne zisaanikira olusiisira. Ku makya, olufu ne lugwa ne lwetooloola olusiisira. Olufu olwagwa bwe lwaggwako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akagonvu ng'omusulo naye nga kakwafu. Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti, “Kiki kino?” Kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti, “Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya.” Ekyo kye kigambo ky'alagidde Mukama nti, “Mukuŋŋaanyeeko buli muntu nga bw'alya; buli muntu kkomero emu, ng'omuwendo gw'abantu bammwe bwe guli, buli muntu alibatwalira ab'omu weema ye.” Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne bakuŋŋaanya abalala nnyingi, abalala ntono. Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya. Musa n'abagamba nti, “Omuntu talekaawo okutuusa enkya.” Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu. Ne bakuŋŋaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya; era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa. Awo olunaku olw'omukaaga bwe lwatuukanga, ne bakuŋŋaanya emirundi ebiri emmere, buli muntu kkomeri bbiri; abakulu bonna ab'ekibiina ne bajja ne bamugamba Musa. N'abagamba nti, “Ekyo Mukama kye yayogera nti, ‘Enkya kye kiwummulo ekikulu, Ssabbiiti entukuvu eri Mukama; mwokye bye mwagala okwokya, mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya.’ ” Ne beeterekera okutuusa enkya, Musa nga bwe yalagira; n'etewunya, so ne mutaba na nvunyu. Musa n'ayogera nti, “Mulye eno leero; kubanga leero ye Ssabbiiti eri Mukama; leero temuugirabe mu ttale. Mukuŋŋaanye mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti, okwo teribeerawo.” Awo ku lunaku olw'omusanvu, abamu ku bantu ne bagenda okukuŋŋaanya, ne batagiraba. Mukama n'amugamba Musa nti, “Mulituusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange? Mulabe, kubanga Mukama abawadde Ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey'ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu.” Ne bawummulanga abantu ku lunaku olw'omusanvu. Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Maanu; ng'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki. Musa n'ayogera nti, “Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti, ‘Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri.’ ” Musa n'amugamba Alooni nti, “Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde maanu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe.” Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo Alooni n'akiteeka mu maaso g'obujulirwa, okubeera ensibo. Abaana ba Isiraeri ne baliira maanu emyaka ana (40), okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya maanu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani. Era kkomero kye kitundu eky'ekkumi ekya efa. Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, nga bagenda basula, nga Mukama bwe yabalagira. Ne basiisira mu Lefidimu, naye nga tewaaliyo mazzi ga kunywa. Abantu kyebaava bayombesa Musa, ne boogera nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n'abagamba nti, “Lwaki munnyombesa nze? Lwaki mugeza Mukama?” Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne beemulugunyiza Musa, ne boogera nti, “Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe, n'ebisibo byaffe n'ennyonta?” Musa n'akaabirira Mukama ng'ayogera nti, “Naabakola ntya abantu bano? Babulako katono bankube amayinja.” Mukama n'amugamba Musa nti, “Yita mu maaso g'abantu, otwale wamu naawe ku bakadde ba Isiraeri; n'omuggo gwo, gwe wakubya omugga, ogukwate mu mukono gwo, ogende. Laba nze n'ayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe.” N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri. N'atuuma ekifo ekyo erinnya Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baageza Mukama, nga boogera nti, “Mukama ali mu ffe, nantiki?” Abamaleki ne bajja, ne balwanyisa Isiraeri mu Lefidimu. Musa n'agamba Yoswa nti, “Otulondere abantu, ogende, olwane n'Abamaleki; enkya n'ayimirira ku ntikko y'olusozi, omuggo gwa Katonda nga guli mu mukono gwange.” Yoswa n'akola bwatyo nga Musa bweyamulagira, n'alwana n'Abamaleki; Musa ne Alooni ne Kuuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi. Awo olwatuuka Musa bwe yayimusanga omukono gwe, Isiraeri n'agoba; bwe yassanga omukono gwe, Abamaleki ne bagoba. Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa; ne batwala ejjinja ne baliteeka wansi we, n'alituulako; Alooni ne Kuuli ne bawanirira emikono gye, omu eruuyi n'omu eruuyi; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa. Yoswa n'asuula Amaleki n'abantu be, n'obwogi bw'ekitala. Mukama n'agamba Musa nti, “Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjukizo, okibuulire Yoswa mu matu ge; nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu.” Musa n'azimba ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Yakuwa ye bendera yange; n'ayogera nti, “Mukama alayidde; Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.” Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri. Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'azzaayo Zipola mukazi wa Musa, gwe yali agobye; ye n'abaana be babiri; erinnya ly'omu ku bo Gerusomu; kubanga yayogera nti, “Nali mugenyi mu nsi etali yange.” N'erinnya ery'omulala Eryeza; kubanga yayogera nti, “Katonda wa kitange yali mubeezi wange, n'amponya mu kitala kya Falaawo.” Yesero, mukoddomi wa Musa, n'ajja n'abaana be, ne mukazi we, eri Musa mu ddungu eryo, eyo gye yasula ku lusozi lwa Katonda. N'agamba Musa nti, “Nze mukoddomi wo Yesero, nzize gy'oli ne mukazi wo, n'abaana be bombi wamu naye.” Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti, “Otyanno?” Ne bayingira mu weema. Musa n'abuulira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era nga Mukama bwe yabawonya. Yesero n'asanyuka ku lw'obulungi bwonna Mukama bwe yakola Isiraeri, kubanga yabalokola mu mukono gw'Abamisiri. Yesero n'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokola abantu mu mukono gw'Abamisiri. Kaakano ntegedde nti Mukama ye mukulu okusinga bakatonda bonna; kubanga yawonya abantu okufugibwa Abamisiri abaabeekulumbalizaako.” Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda; Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda. Awo olwatuuka enkya, Musa n'atuula okulamula abantu, abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa okuva enkya okutuusa akawungeezi. Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti, “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wekka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde.” Musa n'agamba mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi okubuuza Katonda; bwe baba n'ekigambo, ne bajja gye ndi; nange mbasalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye.” Mukoddomi wa Musa n'amugamba nti, “Ekigambo ky'okola si kirungi. Tolirema kusiriira ggwe n'abantu bano abali awamu naawe, kubanga ekigambo kizitowa okusinga bw'oyinza ggwe; toyinza kukituukiriza wekka. Kaakano wuliriza, nze ka nkuwe amagezi, Katonda abeere naawe. Ggwe beera mubaka wa bantu eri Katonda, era otuuse ensonga zaabwe gy'ali; naawe olibayigiriza amateeka n'ebiragiro, era olibalaga ekkubo eribagwanidde okuyitamu, n'emirimu egibagwanidde okukola. Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'ataano, n'abakulu b'amakumi; babasalire emisango ebiseera byonna; kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka, bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe. Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe.” Awo Musa n'awulira eddoboozi lya mukoddomi we, n'akola byonna bye yayogera. Musa n'alonda abasajja abasaanye mu Isiraeri yenna, n'abakuza mu bantu, abakulu ab'enkumi, abakulu b'ebikumi, abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi. Ne balamulanga abantu ebiseera byonna; ensonga enzibu baazireeteranga Musa, naye buli nsonga ntono baagiramulanga bokka. Musa n'asiibula mukoddomi we; n'agenda mu nsi ye. Ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokusatu, nga abaana ba Isiraeri bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi. Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti, “Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri nti, ‘Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnabasitulira mmwe ku biwaawaatiro by'empungu, era bwe nnabaleeta gye ndi. Kale, kaakano, bwe munaawuliranga ddala eddoboozi, lyange ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo mmwe munaabanga ekintu kyange ekiganzi mu mawanga gonna; kubanga ensi yonna yange, nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu.’ Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri.” Musa n'ajja n'ayita abakadde b'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira. Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti, “Byonna Mukama bye yayogera tulibikola.” Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama. Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, njija gy'oli mu kire ekikutte, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna.” Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu. Mukama n'agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero ne enkya, era bayoze engoye zaabwe, beeteketeeke okutuusa olunaku olwokusatu; kubanga ku lunaku olwokusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi. Naawe abantu olibateekera ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti, ‘Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo; buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa. Ensolo yonna oba omuntu yenna alikoma ku lusozi, alittibwa ng'akubibwa amayinja oba okulasibwa n'akasaale; omuntu yenna aleme okumukomako.’ Eŋŋombe bw'erivuga ennyo olwo abantu ne balyoka basemberera olusozi.” Musa n'akka ng'ava ku lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe. N'agamba abantu nti, “Mweteekereteekere olunaku olwokusatu; temusemberera mukazi.” Awo ku lunaku olwokusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekikutte ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana. Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi. Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro; omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo. Eddoboozi ly'eŋŋombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi. Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'olusozi, Musa n'alinnya. Mukama n'agamba Musa nti, “Serengeta, olagire abantu baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okuzikirira. Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okubabonereza.” Musa n'agamba Mukama nti, “Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi; kubanga watulagira, ng'oyogera nti, ‘Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.’ ” Mukama n'amugamba nti, “Genda, oserengete; naawe olirinnya wamu ne Alooni; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okubabonereza.” Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira. Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti, “Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.” “Tobanga na bakatonda balala we ndi.” “Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka; tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga; kubanga nze Mukama Katonda wo, ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajjaabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa; era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, era abakwata amateeka gange.” “Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo; kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.” “Jjukira olunaku olwa Ssabbiiti, okulutukuzanga. Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna; naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti eri Mukama Katonda wo; olunaku olwo tolukolerangako mirimu gyonna gyonna; ggwe kennyini, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omudduwo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo; kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu; Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti, n'alutukuza.” “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa; ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo.” “Tottanga.” “Toyendanga.” “Tobbanga.” “Towaayirizanga muntu munno.” “Teweegombanga nnyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.” Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka, abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala. Ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira; naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa.” Musa n'agamba abantu nti, “Temutya; kubanga Katonda azze okubageza, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona.” Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali. Mukama n'agamba Musa nti, “Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe. Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda ab'effeeza, newakubadde bakatonda ab'ezzaabu, temubeekoleranga. Onkolere ekyoto eky'ettaka, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo; buli wantu we njijukiririzanga erinnya lyange, ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa. Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa; kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'olwo tekikyasaanira. So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako.’ ” “Gano ge mateeka g'oliteeka mu maaso gaabwe. Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga; awo mu mwaka ogw'omusanvu anaaweebwanga eddembe lye n'agenda, nga tewali ky'asasudde. Oba nga yajja omu, agendanga omu; oba nga alina omukazi, mukazi we agendanga naye. Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu. Naye omuddu bw'ayogereranga ddala nti, ‘Njagala mukama wange, mukazi wange, n'abaana bange; saagala kuweebwa ddembe kugenda,’ awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mwango; ne mukama we amuwummulanga okutu n'olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna.” “Omuntu bw'atundanga muwala we okubeera omuzaana, ye taweebwanga ddembe ng'abaddu bwe baweebwa. Oba nga tasanyusa mukama we, eyamuwasa, amulekanga n'anunulibwa kitaawe, era taabenga na buyinza kumuguza bagwira, kubanga aba amuyisizza bubi nnyo. Oba ng'amugabira omwana we, amukolanga ng'abawala. Oba ng'awasa omulala; emmere ye, n'engoye ze n'ebigambo bye eby'obufumbo tabikendeezangako. Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali kusabayo bintu.” “Akubanga omuntu okumutta, talemanga kuttibwa. Kyokka anattanga omuntu nga tagenderedde, ndikuteerawo ekifo gy'ayinza okuddukira n'atakolebwako kabi. Naye omuntu bw'attanga muntu munne mu lukwe ng'agenderedde, ne bw'abanga addukidde ku kyoto kyange okuwona, aggyibwangako n'attibwa.” “Akubanga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa.” “Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mukono gwe, talemanga kuttibwa.” “Akolimiranga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.” “Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda; bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango; naye amugattanga olw'ebiseera bye yamwonoonera, era amujjanjabanga okutuusa lw'aliwona.” Era omuntu bw'akubanga omuddu we, oba muzaana we n'omuggo, bw'afanga ng'akyali wansi w'omukono gwe; talemanga kubonerezebwa. Naye, bw'alwangawo ng'ennaku ebbiri, tabonerezebwanga; kubanga oli bye bintu bye. “Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto, ne luvaamu, naye ne watabaawo kabi kalala; talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga. Naye bwe wabangawo akabi akalala, owangayo obulamu olw'obulamu, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere, okwokebwa olw'okwokebwa, ekiwundu olw'ekiwundu, okukubibwa olw'okukubibwa.” “Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye. Omuntu bw'akubanga erinnyo ly'omuddu we oba erinnyo ly'omuzaana we, amuwanga eddembe olw'erinnyo lye.” “Era ente bw'etomeranga omusajja oba mukazi okubatta, ente teremanga kukubibwa mayinja, so n'ennyama yaayo teriibwanga; naye nannyini nte nga taliiko musango. Naye ente nga ntomezi, nnannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga omusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nnannyiniyo attibwanga. Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe. Bw'etomeranga omwana ow'obulenzi oba omwana ow'obuwala, nnyiniyo ateekebwangako omusango gwe gumu. Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza asatu (30), era n'ente ekubibwanga amayinja.” “Era omuntu bw'abikkulanga obunnya oba omuntu bw'asimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'egwamu, nannyini bunnya amuliyiranga omuwendo gw'ente; awangayo effeeza eri nnannyiniyo, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.” “Era ente y'omuntu bw'etomeranga ente ey'omulala n'emala egitta; batundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana omuwendo gwayo; era n'efudde bagigabananga. Oba bwe kimanyibwanga ng'ente ntomezi nnannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.” “Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga. Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe. Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe, kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe. Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.” “Omuntu bwalekanga ensolo ye okuliira mu lusuku oba mu nnimiro ey'emizabbibu, ensolo n'egenda erya mu lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga.” “Omuliro bwe gulandanga ne gwokya emitwalo gye ŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro, ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.” “Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba ebintu, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri. Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne. Bwe wabangawo okukaayana olw'ebintu oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti, ‘Kye kino,’ ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oyo Katonda gw'asaliranga omusango, aliwanga emirundi ebiri.” “Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba n'erumizibwa, oba n'ebbibwa nga tewali muntu alaba; ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nnannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga. Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nnannyiniyo. Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.” “Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga nnannyinikyo taliiwo, talemanga kumuliyira. Nnannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga; naye bwe kibanga kyapangisibwa, omuwendo gw'okupangisa gunaamalanga.” “Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we. Kitaawe bw'anaaganiranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.” “Omukazi omulogo tomulekanga nga mulamu.” “Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa.” “Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikiririzibwanga ddala.” “Era munnaggwanga tomuyisanga bubi, so tomulumyanga; kubanga mwali bannamawanga mu nsi ey'e Misiri. Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga. Bw'onoobabonyabonyanga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaaba kwabwe; era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange nnaabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.” “Bw'owolanga effeeza omu ku bantu bange abaavu, tomubanjanga ng'omuwozi w'ensimbi bw'abanja, n'omusaba amagoba. Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa; kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe; aneebikka ki? Awo, bw'anankaabiranga, nnaawuliranga; kubanga nnina ekisa.” “Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo.” “Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga. Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze.” “Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi; kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.” “Tokkirizanga kigambo kya bulimba; toteekanga mukono gwo awamu n'abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow'obulimba. Togobereranga bangi okukola obubi; so towanga bujulizi bwa bulimba okukyusa omusango; so tosalirizanga omwavu mu nsonga ye.” “Bw'osanganga ente ey'omulabe wo oba ndogoyi ye ng'ebula, tolemanga kugimuleetera nate. Bw'olabanga endogoyi y'oyo akukyaye ng'egudde wansi olw'obuzito bw'omugugu gwe yeetisse, tolemanga kumuyamba.” “Tokyusanga musango gwa mwavu mu nsonga ye. Weewalanga ekigambo eky'obulimba, so tottanga atalina kabi n'omutuukirivu; sirifuula omubi okubeera omutuukirivu. Era toweebwanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso abatunula, ekyusa ebigambo by'abatuukirivu. Tokolanga bubi munnaggwanga; kubanga mmwe mumanyi omutima gw'omunnaggwanga, kubanga mwali bannamawanga mu nsi ey'e Misiri.” “Era emyaka mukaaga osiganga ensi yo, n'okuŋŋaanyanga ebibala byayo. Naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye; gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni.” “Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga; ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi. Era mu bigambo byonna bye nnabagamba, mwekuumanga; so toyogeranga n'akatono erinnya lya bakatonda abalala newakubadde okuwulikika mu kamwa ko.” “Buli mwaka emirundi esatu oneekuumiranga embaga. Embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa ogyekuumanga; ennaku musanvu olyanga egitazimbulukusiddwa nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri; so temulabikanga ngalo nsa mu maaso gange n'omu, era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro; era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro. Buli mwaka emirundi esatu abasajja bo bonna balabikanga mu maaso ga Mukama Katonda.” “Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'emigaati egizimbulukusibbwa; so n'amasavu ag'embaga yange tegasigalangawo ekiro kyonna okutuuka enkya.” “Ebibereberye eby'ebisooka okubala eby'ensi yo, obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.” “Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina gwayo.” “Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye n'ateekateeka. Mumutunuulire, mumuwulire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye. Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza. Kubanga malayika wange alikulembera mu maaso go, alikuyingiza eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi, n'eri Omukanani, n'eri Omukiivi, n'eri Omuyebusi; nange ndibazikiriza. Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe; naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe. Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, era ndigiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe. Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo; omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza. Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna. Era ndisindika ennumba mu maaso go, eziribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go. Siribagoba mu maaso go mu mwaka gumu; ensi ereme okuzika, so n'ensolo ez'omu nsiko zireme okweyongera ku ggwe. Katono, katono ndibagoba mu maaso go, okutuusa lw'olyeyongera, n'osikira ensi. Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga Fulaati; kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe abatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go. Tolagaananga ndagaano nabo, so ne bakatonda baabwe. Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze; kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika.” Mukama n'agamba Musa nti, “Linnya ku lusozi n'abakadde ensanvu (70) aba Isiraeri, munsinze nga mukyali walako, nga temunnatuuka gyendi. Ggwe wekka Musa, ggw'oba onsemberera; naye bali baleme okusembera, era n'abantu baleme okwambuka awamu naawe.” Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'amateeka gonna; abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti, “Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikola.” Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri (12), ng'ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri bwe biri. N'atuma abavubuka ab'abaana ba Isiraeri, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okebwa, n'ente ng'ekiweebwayo eky'emirembe eri Mukama. Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ekirala eky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto. N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'akisomera abantu; ne boogera nti, “Byonna Mukama by'ayogedde tunaabikolanga era tunaabigonderanga.” Musa n'atoola omusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti, “Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna.” Musa n'alyoka alinnya olusozi ng'ali ne Alooni, Nadabu, Abiku, n'abakadde ensanvu (70) aba Isiraeri; ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala. Katonda n'atakola kabi ku bakulembeze abo aba Isiraeri abaalaba Katonda; ne balya era ne banywa. Mukama n'agamba Musa nti, “Linnya ku lusozi gye ndi, obeereyo; nange ndikuwa ebipande by'amayinja, okuli amateeka n'ebiragiro, bye mpandiise, obiyigirize abantu.” Musa n'agolokola ne Yoswa omuweereza we; Musa n'alinnya ku lusozi lwa Katonda. Musa n'agamba abakadde nti, “Mutulindirire wano, okutuusa lwe tunaakomawo. Alooni ne Kuuli, bo basigale nammwe; buli alina ensonga yonna, agende gyebali.” Musa n'alinnya ku lusozi, ekire ne kibikka olusozi. Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga; ku lunaku olw'omusanvu Mukama n'ayita Musa ng'ayima wakati mu kire. Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri. Musa n'ayingira wakati mu kire ku lusozi, n'amalayo ennaku ana, emisana n'ekiro. Mukama n'agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isiraeri bakuleetere ebiweebwayo byange, nga buli muntu bw'anaakubirizibwa mu mutima gwe. Bino bye biweebwayo bye balibaleetera: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo; n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; amafuta g'ettaala, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba. Era bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe. Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.” “Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola. Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka ku magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olwokubiri. Era olikola emisituliro egy'omuti ogwa sita, oligibikkako zaabu. Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esitulibwenga n'egyo. Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko; tegiggibwangamu. Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa. Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi; emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo. Era olikola bakerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira. Era kola kerubi omu ku nsonda emu, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda endala; bakerubi n'entebe ey'okusaasira birikolwa okuva mu zaabu emu. Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga batunuliganye amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira. Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku ssanduuko; era mu ssanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa. Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakulagiranga eri abaana ba Isiraeri. “Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita; emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola. Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola. Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana. Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza. Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo. Era olikola essowaani zaayo, n'ebbakuli zaayo, eby'okuteekamu eby'akaloosa; n'ensuwa zaayo, nensumbi zaayo eby'okuttuluza. Olibikola mu zaabu ennungi. Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo. “Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi; ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo. Kiriba n'amatabi mukaaga ku njuyi zaakyo: amatabi asatu ku buli ludda. Buli limu ku matabi omukaaga liribeerako ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, omutwe n'ekimuli; ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo; n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo. Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo; kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu. Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu; era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo. Ne nnamagalo waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi. Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna. Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi. “Era olikola eweema n'emitanda kkumi (10); ne bafuta erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oligikola. Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono abiri mu munaana (28), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna giribeera gya kigero kimu. Emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka; n'emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka. Era olikola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. Olikola eŋŋango ataano (50) ku mutanda gumu, era olikola eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri; eŋŋango ziritunuuliragana zokka na zokka. Era olikola ebikwaso ataano (50) ebya zaabu, ogatte emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso; eweema eribeera emu. “Era olikola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema; oligikola emitanda kkumi na gumu (11). Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono asatu (30), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda kkumi na gumu (11) giribeera gya kigero kimu. Era oligatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maaso g'eweema. Era olikola eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda gumu ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. Era olikola ebikwaso ataano (50) eby'ekikomo, oliteekamu ebikwaso mu ŋŋango, oligatta eweema, ebeere emu. N'ekitundu eky'emitanda gy'eweema ekifikkawo ekireebeeta, ekitundu kimu eky'omutanda ekifikkawo, kirireebeetera emabega w'eweema. N'omukono ogw'okuluuyi luno, n'omukono ogw'okuluuyi luli, ogufikkawo mu buwanvu bw'emitanda gy'eweema, gulireebeeta ku mbiriizi z'eweema eruuyi n'eruuyi, okugibikka. Era olikola ku weema n'amaliba g'endiga eza sseddume amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.” “Era olikola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, ziyimirire. Emikono kkumi bwe bulibeera obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibeera obugazi bwa buli lubaawo. Mu buli lubaawo mulibeera ennimi bbiri, ezigattibwa zokka na zokka; bw'otyo bw'olikola ku mbaawo zonna ez'eweema. Era olikola embaawo ez'eweema, embaawo abiri (20) ez'oluuyi lw'obukiikaddyo mu bukiikaddyo. Era olikola ebinnya ebya ffeeza ana (40) wansi w'embaawo abiri (20); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri; era ez'oluuyi olwokubiri olw'eweema, ku luuyi lw'obukiikakkono, embaawo abiri (20); n'ebinnya byazo ebya ffeeza ana (40); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu; n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. N'ez'oluuyi lw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba, olikola embaawo mukaaga. Era olikola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. Ziriba bbiri wansi, bwe zityo bwe ziriba ennamba waggulu waazo, okutuuka ku mpeta esooka; bwe zityo bwe ziriba zombi; ziribeera ez'ensonda ebbiri. Era waliba embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga (16); ebinnya ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. Era olikola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi olumu olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olwokubiri olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'eweema ku luuyi olw'emabega, olw'ebugwanjuba. N'omuti ogwa wakati w'embaawo guyitemu eruuyi n'eruuyi. N'embaawo olizibikkako zaabu, era olikola empeta zaazo za zaabu omwokuteekera emiti: n'emiti oligibikkako zaabu. Era olizimba eweema mu ngeri yaayo gye walagibwa ku lusozi.” “Era olikola eggigi erya kaniki, n'ery'olugoye olw'effulungu, n'ery'olumyufu, n'erya bafuta ennungi erangiddwa; ne bakerubi omulimu ogw'abakozi ab'amagezi bwe lirikolebwa; era oliriwanika ku mpagi nnya ez'omuti gwa sita ezibikkiddwako zaabu, ebikwaso byazo biribeera bya zaabu, ku binnya bina ebya ffeeza. Era oliwanika eggigi wansi w'ebikwaso, n'essanduuko ey'obujulirwa oligiyingiza eri munda w'eggigi; n'eggigi liryawulamu eri mmwe awatukuvu n'awasinga obutukuvu. Era oliteeka entebe ey'okusaasira ku ssanduuko ey'obujulirwa mu wasinga obutukuvu. N'emmeeza oligiteeka ebweru w'eggigi, n'ekikondo mu maaso g'emmeeza ku luuyi olw'eweema olw'obukiikaddyo; n'emmeeza oligiteeka ku luuyi olw'obukiikakkono.” “Era olikola oluggi olw'omulyango ogw'eweema, olwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza. Era olikola empagi ttaano ez'omuti gwa sita ez'oluggi, olizibikkako zaabu; ebikwaso byazo biribeera bya zaabu; era olizifumbira ebinnya bitaano eby'ekikomo.” “Era olikola ekyoto n'omuti gwa sita, emikono etaano obuwanvu, n'emikono etaano obugazi; ekyoto kiryenkanankana; n'obugulumivu bulibeera emikono esatu. Era olikola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo galibeera ga muti gumu nakyo; era olikibikkako ekikomo. Era olikola entamu zaakyo ez'okutwaliramu evvu lyakyo, n'ebijiiko byakyo, n'ebibya byakyo, n'amakato gaakwo, n'emmumbiro zaakyo; ebintu byakyo byonna olibikola nga bya bikomo. Era olikikolera ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa; ne ku kirukiddwa olikolako empeta nnya ez'ebikomo ku nsonda zaakyo ennya. Era olikiteeka wansi w'omuziziko ogwetooloola ekyoto wansi, ekirukiddwa kituuke wakati mu bugulumivu obw'ekyoto. Era olikola emisituliro egy'ekyoto, emisituliro gy'omuti gwa sita, oligibikkako ebikomo. N'emisituliro gyakyo giriyingizibwa mu mpeta, n'emisituliro giribeera ku mbiriizi z'ekyoto zombi, okukisitula. Olikikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda: nga bwe walagirirwa ku lusozi, bwe batyo bwe balikikola.” “Era olikola oluggya lw'eweema; eby'oluuyi olw'obukiikaddyo mu bukiikaddyo walibeera ebitimbibwa eby'oluggya ebya bafuta erangiddwa emikono kikumi (100) obuwanvu oluuyi olumu; n'empagi zaalwo ziribeera abiri (20), n'ebinnya byazo abiri (20), eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. Era bwe bityo eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono walibeera ebitimbibwa emikono kikumi (100) obuwanvu, n'empagi zaalwo abiri (20), n'ebinnya byazo abiri (20), eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. Era eby'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebugwanjuba walibeera ebitimbibwa eby'emikono ataano (50); empagi zaabyo kkumi (10), n'ebinnya byazo kkumi (10). N'obugazi bw'oluggya okuva ku mulyango okudda ebuvanjuba, bulibeera emikono ataano (50). Ebitimbibwa eby'oluuyi olumu olw'omulyango biribeera emikono kkumi n'etaano (15) empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. Era eby'oluuyi olwokubiri walibeera ebitimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano (15); empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. Era olw'omulyango ogw'oluggya walibeera oluggi olw'emikono abiri (20), olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omudaliza; empagi zaazo nnya, n'ebinnya byazo bina. Empagi zonna ez'oluggya ezeetooloode ziribeerako emiziziko egya ffeeza: ebikwaso byazo bya ffeeza, n'ebinnya byazo bya bikomo. Obuwanvu obw'oluggya bulibeera emikono kikumi (100), n'obugazi ataano (50) wonna, n'obugulumivu emikono etaano, obwa bafuta ennungi erangiddwa, n'ebinnya byazo bya bikomo. Ebintu byonna eby'omu weema, mu mulimu gwayo gwonna, n'enninga zaayo zonna, n'enninga zonna ez'oluggya, biribeera bya bikomo.” “Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeyituuni agakubibwa ag'ettaala okwasa ettaala bulijjo. Mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva olweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama; linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna mu baana ba Isiraeri.” “Era sembeza gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, bampeereze mu bwakabona; Alooni n'abaana be: Nadabu, Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. Era olimukolera Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuvu olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. Era olibagamba bonna abasobola okukola, be nnajjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni ayawulibwe, ampeereze mu bwakabona. Bino bye byambalo bye balikola: eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibaawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba; era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, bampeereze mu bwakabona. Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta.” “Era balikola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi. Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu. N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa. Era olitwala amayinja abiri aga onuku, n'oyolako amannya g'abaana ba Isiraeri; amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja eryokubiri, nga bwe bazaalibwa. Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; oligeetoolooza amapeesa aga zaabu. Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri; era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo. Era olikola amapeesa aga zaabu; n'emikuufu ebiri egya zaabu ennungi; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa; era olisiba emikuufu egirangiddwa ku mapeesa.” “Era olikola eky'omu kifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi; ng'omulimu ogw'ekkanzu bw'olikikola; ekya zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, bw'olikikola. Kiryenkanankana enjuyi zonna, ekifunyemu; kiribeera luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo. Era olikitonamu amayinja ag'okutona, ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadiyo, topazi, ne kabunkulo lwe lulibeera olunnyiriri olwolubereberye; n'olunnyiriri olwokubiri lya nnawandagala, safiro, ne alimasi; n'olunnyiriri olwokusatu luliba lwa yakinso, ne sebu, ne amesusito; n'olunnyiriri olwokuna berulo, ne onuku, ne yasipero; galyetooloozebwa zaabu we gaatonebwa. N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri (12), ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri (12). Era olikola ku ky'omukifuba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. Era olikola ku ky'omukifuba empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka zombi ku nsonda ebbiri ez'eky'omukifuba. Era oliteeka emikuufu ebiri egirangibwa egya zaabu ku mpeta ebbiri ku nsonda ez'eky'omukifuba. N'enkomerero ebbiri endala ez'emikuufu egirangibbwa ebbiri oliziteeka ku mapeesa abiri, n'ogateeka ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi ez'eky'omukifuba; ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda. Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku by'oku bibegabega ebibiri eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulangibbwa n'amagezi. Era balisiba eky'omu kifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu. Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu ky'omukifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna. Era oliteeka mu ky'omukifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama, Ulimu ne Sumimu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama; ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.” “Era olikola omunagiro ogw'oku kkanzu nga gwonna gwa kaniki. Era gulibeera n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe; gulibeera n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, guleme okuyuzibwa. Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola: endege eya zaabu n'enkomamawanga, endege eya zaabu n'enkomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola. Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa.” “Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabeeranga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maaso olw'ekiremba kwe kanaabeeranga. Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni; ne Alooni anettikkanga okusobya kw'abaana ba Isiraeri nga bawaayo ebirabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama.” “Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ennungi, era olikola ekiremba ekya bafuta ennungi, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza.” “Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkufiira, olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona. Era olibakolera seruwale za lugoye, okubikka ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; ziriva mu kiwato okukoma mu bisambi; Alooni ne batabani be banaabanga bazambadde, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa; kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira.” “Era bw'olibakola bw'otyo okubatukuza, bampeereze mu bwakabona; otwale ente ennume ento n'endiga ennume bbiri ezitaliiko bulema, n'emigaati egitazimbulukusiddwa, n'obugaati obutazimbulukusiddwa obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa egisiigiddwako amafuta; oligikola n'obutta obulungi obw'eŋŋaano. Era oligiteeka mu kabbo kamu, oligireetera mu kabbo, awamu n'ente n'endiga ebbiri. Ne Alooni n'abaana be olibaleeta ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, olibanaaza n'amazzi. Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'eky'omukifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibbwa n'amagezi; era olissa ekiremba ku mutwe gwe, n'oteeka engule entukuvu ku kiremba. N'olyoka otwala amafuta ag'okufukibwako, n'ogafuka ku mutwe gwe, n'omutukuza Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo. Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira; era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo. Bw'otyo bw'olyawula Alooni n'abaana be.” “Era olireeta ente mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'ente. Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. N'otwala ku musaayi gw'ente n'oguteeka ku mayembe g'ekyoto n'olunwe lwo; n'oyiwa omusaayi gwonna mu ntobo y'ekyoto. Era olitwala amasavu gonna agabikka ebyenda, n'ekisenge ekiri ku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'obyokera ku kyoto. Naye ennyama y'ente, n'eddiba lyayo, n'obusa bwayo, olibyokya n'omuliro ebweru w'olusiisira; kye kiweebwayo olw'ebibi.” “Era olitwala endiga emu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. Era olisala endiga, n'otwala omusaayi gwayo, n'ogumansira ku kyoto okukyetooloola. Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo. Era olyokera ku kyoto endiga ennamba; kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama; lye vvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.” “Era olitwala endiga eyokubiri; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola. Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye; naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be wamu naye.” “Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye ndiga ey'okutukuza; n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibbwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukusiddwa akali mu maaso ga Mukama; era olibissa byonna mu ngalo za Alooni, ne mu ngalo z'abaana be; n'obiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Era olibiggya mu ngalo zaabwe, n'obyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi mu maaso ga Mukama; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.” “Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; era ekyo kinaabanga mugabo gwo. Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be; era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna, kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa; era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama.” “N'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni binaabeeranga by'abaana be abalimuddirira, okutukulizibwangamu n'okwawulirwangamu. Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu.” “Era olitwala endiga ey'okutukuza, n'ofumbira ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu. Ne Alooni n'abaana be balirya ennyama y'endiga n'emigaati egiri mu kabbo, mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa; naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu. Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, olibyokya n'omuliro; tebiririibwa, kubanga bitukuvu.” “Bw'olikola bw'otyo Alooni n'abaana be, nga byonna bye nkulagidde; olibatukuliza ennaku musanvu. Era onoowangayo buli lunaku ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi olw'okutangirira; era onoolongoosanga ekyoto, bw'onookikoleranga eky'okutangirira; era onookifukangako amafuta, okukitukuza. Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga; era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu.” “Kale by'onoowangayo ku kyoto bye bino; abaana b'endiga babiri abaakamala omwaka ogumu buli lunaku obutayosa. Enkya onoowangayo omwana gw'endiga ogumu; n'akawungeezi onoowangayo omwana gw'endiga ogwokubiri. Era awamu n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu ekyokuna ekya yini eky'amafuta amakube; n'ekitundu ekyokuna ekya yini eky'envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa. N'omwana gw'endiga omulala onooguwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo wenaabasisinkaniranga okwogera nammwe. Era awo we nnaasisinkaniranga n'abaana ba Isiraeri; n'eweema eritukuzibwa n'ekitiibwa kyange. Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto; ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona. Era nnaatuulanga mu baana ba Isiraeri, era nnaabeeranga Katonda waabwe. Nabo banaategeeranga nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke ntuule mu bo; Nze Mukama Katonda waabwe.” “Era olikola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane; olikikola n'omuti ogwa sita. Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obugulumivu bwakyo mikono ebiri; amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo. Era olikibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo; era olikikolako engule eya zaabu okwetooloola. Era olikikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi kw'olizikolera; era ziribeera bifo bya misituliro okukisitulirangako. Era olikola emisituliro n'omuti ogwa sita, n'ogibikkako zaabu. Era olikiteeka mu maaso g'eggigi eriri okumpi n'essanduuko ey'obujulirwa, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, kwe nnaasisinkaniranga naawe. Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa; buli nkya bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga. Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. Temukyoterezangako obubaane obulala, newakubadde ekiweebwayo eky'okwokya, newakubadde ekiweebwayo eky'obutta; so temukifukirangako ekiweebwayo eky'okunywa. Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka; n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna; kye kitukuvu ennyo eri Mukama.” Mukama n'agamba Musa nti, “Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga. Kino kye banaawanga: buli anaabalibwanga anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: sekeri emu yenkana ne gera abiri, ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama. Anaabalibwanga y'oyo awezezza emyaka abiri n'okusingawo, era anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama. Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga ku kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe. Era onootwalanga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe.” Mukama n'agamba Musa nti, “Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, okunaabirangamu; n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi. Ne Alooni n'abaana be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe; bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; banaanaabanga bwe batyo engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa: era kinaabeeranga kiragiro ennaku zonna eri bo, eri ye n'eri ezzadde lye mu mirembe gyabwe gyonna.” Nate Mukama n'agamba Musa nti, “Era weetwalire ku byakaloosa ebisinga obulungi: muulo ekulukuta sekeri bitaano (500), ne kinamomo sekeri bibiri mu ataano (250), kye kitundu ky'omuwendo gwa muulo, ne kalamo empoomerevu sekeri bibiri mu ataano (250), ne kasiya sekeri bitaano (500), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, n'amafuta ag'omuzeyituuni yini emu; era olibikoza amafuta amatukuvu ag'okufukibwangako, omugavu ogutabuddwa n'amagezi ag'omukozi w'omugavu; galiba mafuta amatukuvu ag'okufukibwangako. Era oligafuka ku weema ey'okusisinkanirangamu, ne ku ssanduuko ey'obujulirwa, ne ku mmeeza ne ku bintu byayo byonna, n'ekikondo ne ku bintu byakyo ne ku kyoto eky'okwoterezangako, ne ku kyoto eky'okwokerangako ne ku bintu byakyo byonna, ne ku kinaabirwamu ne ku ntobo yaakyo. Era olibitukuza okubeera ebitukuvu ennyo; buli ekinaabikomangako kiriba kitukuvu. Era Alooni n'abaana be olibafukako amafuta n'obatukuza okumpeereza mu bwakabona. Era oligamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Gano ganaabanga amafuta gange amatukuvu agatukuza mu mirembe gyammwe gyonna. Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa; ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli. Buli alitabula agafaanana nago, na buli aligafukako ku munnaggwanga alizikirizibwa okuva mu bantu be.’ ” Mukama n'agamba Musa nti, “Weetwalire ebyakawoowo akalungi: sitakite, ne onuka, ne galabano; eby'akaloosa akalungi n'omugavu omulongoofu, byonna byenkane obuzito; era olibikoza eky'okwoteza, akaloosa akakolebwa n'amagezi ag'omukozi w'akaloosa, akatabuddwamu omunnyo, akalongoofu, akatukuvu; era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe; kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli. N'eky'okwoteza ky'olikola temukyekoleranga mmwe mwekka nga bwe kitabulwa; kinaabeeranga kitukuvu gy'oli eri Mukama. Buli anaakolanga agafaanana nago, okuwunyako, alizikirizibwa okuva mu bantu be.” Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, mpise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'omu kika kya Yuda: era mmujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, ne mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri ya kukola, okulowooza emirimu egy'amagezi, okukola ne zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo, ne mu kusala amayinja ag'okussaamu, okwola emiti, n'okukola buli ngeri ya mulimu. Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne bonna abalina obusobozi ntadde amagezi mu mitima gyabwe, bakole byonna bye nkulagidde; eweema ey'okusisinkanirangamu, ne ssanduuko ey'obujulirwa, n'entebe ey'okusaasira egiriko, n'ebintu byonna eby'omu weema; n'emmeeza n'ebintu byayo, n'ekikondo ekirungi n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoto eky'okwoterezangako; n'ekyoto eky'okwokerangako n'ebintu byakyo byonna, n'ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona; n'amafuta ag'okufukibwangako, n'eky'okwoteza eky'ebyakaloosa akalungi ebya watukuvu; nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo.” Mukama n'agamba Musa nti, “Era buulira abaana ba Isiraeri nti, ‘Mazima mukwatanga Ssabbiiti zange; kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza. Kyemunaavanga mukwata Ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli; buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa; kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo Ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama; buli anaakoleranga emirimu gyonna ku Ssabbiiti, talemanga kuttibwa. Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata Ssabbiiti, okwekuumanga Ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo. Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna; kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.’ ” Bwe yamala okwogera naye ku lusozi, Sinaayi, n'awa Musa ebipande bibiri eby'obujulirwa, ebipande eby'amayinja, ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda. Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti, “Golokoka, otukolere katonda anaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.” Alooni n'abagamba nti, “ Muggyeeko empeta eza zaabu eziri ku matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.” Abantu bonna ne baggyako empeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni. N'azitoola mu ngalo zaabwe, n'aziwumba n'ekyuma ekisala, n'azisanuusa, n'azikolamu ennyana; ne boogera nti, “Ono ye katonda wo, ggwe Isiraeri, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.” Alooni bwe yalaba bw'atyo, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti, “Enkya wanaabeera embaga ya Mukama.” Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka ne bakola ebitasaana. Mukama n'agamba Musa nti, “Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza; bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ” Mukama n'agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye nga ba nsingo nkakanyavu; kale kaakano ndeka, obusungu bwange bubuubuukire ku bo, era mbazikirize; era ndikufuula ggwe eggwanga eddene.” Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti, “Mukama kiki ekibuubuusizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi, n'omukono ogw'obuyinza? Lwaki owa Abamisiri omwaganya okwogera nti, Yabajja mu Misiri ng'agenderedde okubattira ku nsozi abasaanyizeewo ddala? Leka obusungu bwo obukambwe, okyuse oleme okubonereza abantu bo. Jjukira Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayirira wekka n'obagamba nti, ‘Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna.’ ” Mukama n'akyusa naatabonereza bantu be. Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi. N'ebipande byali mulimu gwa Katonda, n'okuwandiika kwali kuwandiika kwa Katonda, okwayolebwa ku bipande. Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu n'agamba Musa nti, “Mpulira abantu mu lusiisira nga baleekaana ng'abalwana.” N'ayogera nti, “Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa; naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira.” Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina; obusungu bwa Musa ne bubuubuuka nnyo, n'akasuka ebipande ebyalimu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi. N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri. Musa n'agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukola ki, ggwe n'okuleeta n'obaleetako okwonoona okunene?” Alooni n'ayogera nti, “Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo; gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi. Kubanga baŋŋamba nti, ‘Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.’ Ne mbagamba nti, ‘Buli alina zaabu yonna yonna, agyeggyeko;’ awo ne bagimpa, ne ngiteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.” Musa nnalaba abantu nga bajagaladde; kubanga Alooni yabaleka okujagalala, kye kyabatuusa ku kusekererwa abalabe baabwe; Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti, “Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi.” Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali. N'abagamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Buli muntu akwate ekitala kye, ayiteeyite mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, atte mugandawe, muntu munne, ne muliraanwa we.’ ” Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ku lunaku olwo abantu ne bafa ng'enkumi ssatu (3,000). Musa n'ayogera nti, “Mwetukuzza eri Mukama, kuba buli omu ku mmwe akkirizza okutta omwana we ne mugandawe, Mukama alyoke akuwe omukisa leero.” Awo bwe bwakya enkya, Musa n'agamba abantu nti, “Mwayonoonye ekyonoono ekinene; ne kaakano nnaalinnya eri Mukama; mpozzi n'akola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe.” Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti, “Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera katonda owa zaabu. Naye kaakano, sonyiwa ekyonoono kyabwe, naye bw'otoobasonyiwe nkwegayiridde sangula nze mu kitabo kyo kye wawandiika.” Mukama n'agamba Musa nti, “Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange. Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako; laba, malayika wange anaakukulemberanga; era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.” Mukama n'abonyaabonya abantu, kubanga bawaliriza Alooni okukola ennyana eya zaabu. Mukama n'agamba Musa nti, “Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo;’ era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi; mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; kubanga nze siririnnya wakati mu mmwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu, nneme okukuzikiririza mu kkubo.” Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala; ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo. Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza; kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.’ ” Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo. Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira. Era Musa bwe yafulumanga n'agenda mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema. Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema, Mukama n'ayogera ne Musa. Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema, abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye. Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate; naye omuweereza we Yoswa, omwana wa Nuuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema. Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, ondagira nti, ‘Twala abantu bano;’ n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti, ‘Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.’ Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nnalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.” N'ayogera nti, “Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula.” N'amugamba nti, “Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano. Bw'otoligenda naffe abantu balimanyira ku ki nti nze n'abantu bo twalaba ekisa mu maaso go? Bw'onoogenda naffe ekyo kye kiritwawula, nze n'abantu bo ku bantu abalala bonna abali ku nsi.” Mukama n'agamba Musa nti, “Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola; kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya.” N'ayogera nti, “Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo.” Mukama n'addamu nti, “Nja kuyita mu maaso go, olabe obulungi bwange bwonna, era nja kwatulira mu maaso go erinnya lyange: Nze MUKAMA. Nkwatirwa ekisa oyo gwe mba njagadde okukwatirwa ekisa, era nsaasira oyo gwe mba njagadde okusaasira.” N'ayogera nti, “Toyinza kundaba maaso; kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu.” Mukama n'ayogera nti, “Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja; awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaabanga kiyita, nnaakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo; ne nzigyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange; naye amaaso gange tegaalabike.” Mukama n'agamba Musa nti, “Weebajjire ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye: nange ndiwandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye, bye wamenya. Era enkya weeteeketeeke olinnye ku lusozi Sinaayi, weeragire okwo gye ndi ku ntikko yaalwo. So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.” N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoka enkya ku makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja. Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'ayatula erinnya lye, MUKAMA. Mukama n'ayita mu maaso ge, n'ayatula nti, “Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi, era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana.” Musa n'ayanguwa, n'akutamya omutwe, n'asinza. N'ayogera nti, “Bwe mba kaakano nga N'alaba ekisa mu maaso go, ayi Mukama, Mukama atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo.” N'ayogera nti, “Laba, ndagaana endagaano; mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna; n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukozesa kya ntiisa. Lowooza kino kye nkulagira leero. Laba, ngoba mu maaso go Omwamoli, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi. Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe; naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe; kubanga toosinzenga katonda mulala yenna, kubanga Mukama, erinnya lye Waabuggya, ye Katonda ow'obuggya; tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne bawa bakatonda baabwe ssaddaaka, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye; Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza bakatonda baabwe.” “Teweekoleranga bakatonda abasaanuuse. Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu; kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri. Buli ekinaggulanga enda kyange; n'ensolo zo zonna ennume, eby'olubereberye eby'ente n'eby'endiga. N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga; era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga ensingo yaayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu. “Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga; mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga. Era mukuumanga embaga ey'Amakungula, bwe mutandikanga okukungula ebibala byammwe ebisooka eby'eŋŋaano, era mukuumanga embaga ey'ensiisira, nga mutereka ebibala byammwe, ku nkomerero y'amakungula. Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna baneeraganga mu maaso ga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri. Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo; so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka. “Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukusiddwa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya. Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo.” Mukama n'agamba Musa nti, “Ggwe wandiika ebigambo ebyo; kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.” N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi (10). Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo ze; Musa n'atamanya ng'obwenyi bwe bumasamasa olw'okwogera ne Katonda. Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, obwenyi bwe nga bumasamasa; ne batya okumusemberera. Musa n'abayita; Alooni n'abakulu bonna ab'ekibiina ne badda gy'ali; Musa n'ayogera nabo. Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera; n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi. Musa bwe yamala okwogera nabo, n'ateeka eky'okubikka ku maaso ge. Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n'aggyako eky'okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n'afulumanga n'ayogera n'abaana ba Isiraeri nga bwe yalagirwanga; abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, obwenyi bwe nga bumasamasa; Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye. Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti, “Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola. Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, Ssabbiiti ey'okuwummula okutukuvu eri Mukama; buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga. Temukumanga muliro gwonna mu nnyumba zammwe zonna ku lunaku olwa Ssabbiiti.” Musa n'abuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti, “Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde. Muggye ku bannammwe ekiweebwayo eri Mukama; buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama: zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo; ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; n'amafuta g'ettaala, n'eby'akaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omukifuba. “Era buli muntu mu mmwe alina obusobozi, ajje akole byonna Mukama by'alagidde; ennyumba, eweema yaayo n'eky'okugibikkako, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; essanduuko, n'emisituliro gyayo, entebe ey'okusaasira, n'eggigi eryawulamu; emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; era n'ekikondo eky'ettabaaza, n'ebintu byakyo, n'ettabaaza zaakyo, n'amafuta ag'ettabaaza; n'ekyoto eky'okwoterezangako, n'emisituliro gyakyo, n'amafuta ag'okufukako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'omu mulyango ogw'eweema; ekyoto eky'okwokerangako ekiweebwayo, era n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; ebitimbibwa eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byazo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya; enninga ez'eweema, n'enninga ez'oluggya, n'emigwa gyabyo; n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, eby'okuweererezangamu mu bwakabona.” Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bava mu maaso ga Musa. Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna, n'olw'ebyambalo ebitukuvu. Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemo, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama. Na buli muntu eyalabika ng'alina kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, n'ebyoya by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'abireeta. Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama; na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta. N'abakazi bonna abaalina obusobozi, ne balanga n'engalo zaabwe, ne baleeta bye baalanga, kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi. N'abakazi bonna abaalina obusobozi okukola, ne balanga ebyoya by'embuzi. N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omukifuba; n'eby'akaloosa, n'amafuta; olw'ettabaaza, n'olw'amafuta ag'okufukako, n'olw'obubaane obuwoomerevu. Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, nga bwe bakubirizibwa mu mitima gyabwe, okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa. Musa n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Laba, Mukama alonze Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda; era amujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri y'okukola; n'okuyiiya emirimu egy'amagezi, n'okukola omulimu gwa zaabu, n'ogwa ffeeza, n'ogw'ekikomo, n'ogw'okusala amayinja ag'okutona, n'ogw'okwola emiti, okukola buli ngeri y'emirimu egy'amagezi. Era aluŋŋamizza okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani. Abo abawadde obusobozi, okukola buli ngeri ya mirimu gyonna: egy'omusazi w'amayinja, n'egy'omudaliza, egya kaniki, n'egy'olugoye olw'effulungu, n'egy'olumyufu, n'egya bafuta ennungi, n'egy'omulusi. Basobola okukola emirimu gyonna egya buli ngeri, era n'okuyiiya eby'amagezi. “Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina obusobozi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira.” Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina obusobozi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe; buli muntu nga bwe yakubirizibwa mu mutima gwe okujja okukola omulimu. Musa n'abawa eby'okukozesa, abaana ba Isiraeri bye baaleeta olw'okukola emirimu egy'omu watukuvu. Era buli nkya ne baleetanga ebintu, bye bawangayo oby'okukozesanga nga tebawalirizibbwa. N'ab'amagezi bonna, abaakola emirimu gyonna egy'omu watukuvu, ne bava buli muntu ku mulimu gwe, gwe baali bakola; ne bagamba Musa nti, “Abantu baleeta bingi ne basukkiriza kw'ebyo ebyetaagisa okukola omulimu Mukama gwe yalagira.” Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna nti, “Omusajja era n'omukazi balekere awo okuleeta ebintu eby'okukozesa omulimu ogw'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta ebintu. Kubanga ebintu bye baali nabyo byamala emirimu gyonna okugikola, era byasukkirirawo.” “Na buli muntu eyalina obusobozi, eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bagitungako bakerubi. Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono abiri mu munaana (28), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda gyonna gyali gya kigero kimu. N'agatta emitanda etaano gyokka na gyokka, era n'emitanda etaano emirala n'agigatta gyokka na gyokka. N'akola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. Yakola eŋŋango ataano (50) ku mutanda gumu, n'eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri; eŋŋango zatunuuliragana zokka na zokka. Era n'akola ebikwaso ebya zaabu ataano (50), n'agatta emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso; eweema n'ebeera emu. Era n'akola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema; yakola emitanda kkumi na gumu (11). Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono asatu (30), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda kkumi na gumu (11) gyali gya kigero kimu. N'agatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka. N'akola eŋŋango ataano (50) ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango ataano (50) n'azikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. Era n'akola ebikwaso ataano (50) eby'ebikomo okugatta eweema, ebeere emu. Era n'akolera weema eky'okugibikkako eky'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.” Era n'akola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, okuyimirira. Emikono kkumi (10) bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo. Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka; bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema. N'akola embaawo ez'eweema; embaawo abiri (20) ez'oluuyi lw'obukiikaddyo, mu bukiikaddyo obwa ddyo; era n'akola ebinnya ebya ffeeza ana (40) wansi w'embaawo abiri (20); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri. Era ez'oluuyi olwokubiri olw'eweema, ku luuyi olw'obukiikakkono, n'akola embaawo abiri (20), n'ebinnya byazo ebya ffeeza ana (40); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. Era ez'oluuyi olw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba n'akola embaawo mukaaga. Era n'akola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu; bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi. Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga (16); ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo. Era n'akola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi lumu olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olulala olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'eweema ez'oluuyi olw'emabega olw'ebugwanjuba. N'omuti ogwa wakati n'aguyisa wakati mu mbaawo eruuyi n'eruuyi. N'embaawo n'azibikkako zaabu, n'akola empeta zaazo eza zaabu omw'okuteeka emiti, n'emiti n'agibikkako zaabu. N'akola eggigi erya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; n'atungako bakerubi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yalikola. N'alikolera empagi nnya ez'omuti gwa sita, n'azibikkako zaabu; n'ebikwaso byazo byali bya zaabu; n'azifumbira ebinnya bina ebya ffeeza. Oluggi olw'eweema n'alukolera akatimba aka kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza; n'empagi zaako ttaano n'ebikwaso byazo; n'emitwe gyazo, n'emiziziko gyazo, n'abibikkako zaabu; n'ebinnya byazo bitaano byali bya bikomo. Bezaaleeri n'akola essanduuko ey'omuti gwa sita; obuwanvu bwayo bwali emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu; n'agibikkako zaabu ennungi munda ne kungulu, n'agikolera engule eya zaabu okwetooloola. N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, mu magulu gaayo ana; empeta bbiri ku lubiriizi lwayo olumu, n'empeta bbiri ku lubiriizi lwayo olwokubiri. N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu. N'ayingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, okusitula essanduuko. N'akola entebe ey'okusaasira eya zaabu ennungi; obuwanvu bwayo emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu. N'akola bakerubi babiri aba zaabu; omuweese, n'abateeka ku nsonda zombi ez'entebe ey'okusaasira; kerubi omu ku nsonda emu, ne kerubi omu ku nsonda endala; yakola bakerubi mu kitundu eky'entebe ey'okusaasira ku nsonda zaayo ebbiri. Ne bakerubi baagolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga batunuuliraganye; amaaso ga bakerubi gaatunuulira entebe ey'okusaasira. N'akola emmeeza ey'omuti gwa sita; obuwanvu bwayo emikono ebiri, n'obugazi bwayo omukono gumu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu; n'agibikkako zaabu ennungi, n'agikolako engule eya zaabu okwetooloola. N'agikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, n'alukolera olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola. N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, n'ateeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana (4). Kumpi n'olukugiro empeta we zaali, ebifo eby'emisituliro gisitulenga emmeeza. N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu, okusitulanga emmeeza. N'akola ebintu ebyabeeranga ku mmeeza, mu zaabu ennungi: essowaani zaayo n'ebbakuli zaayo eby'okuteekamu eby'akaloosa; n'ensuwa zaayo, n'ensuumbi zaayo eby'okuttuluza. N'akola ekikondo ekya zaabu ennungi: entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo byali bya zaabu emu nakyo; era amatabi mukaaga gaava ku mbiriizi zaakyo; amatabi asatu (3) ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olumu, n'amatabi asatu (3) ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olwokubiri; ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi eryokubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agaava ku kikondo. Ne mu kikondo mwalimu ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyabyo n'ebimuli byabyo; n'omutwe gwali wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agaakivaako. Emitwe gyabyo n'amatabi gaabyo byali bya zaabu emu nakyo; kyonna kyali mulimu muweese gumu ogwa zaabu ennungi. N'akola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu, ne makansi waakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, ne zaabu ennungi. Yakikola ne ttalanta eya zaabu ennungi, n'ebintu byakyo byonna. N'akola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane eky'omuti gwa sita: obuwanvu bwakyo bwali mukono, n'obugazi bwakyo mukono, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo bwali emikono ebiri; amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo. N'akibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo: n'akikolako engule eya zaabu okwetooloola. N'akikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi, okuba ebifo eby'emisituliro, okukisitulirangako. N'akola emisituliro n'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu. N'akola amafuta amatukuvu ag'okufukangako, n'obubaane obulongoofu obw'ebyakaloosa akalungi, ng'amagezi ag'omukozi w'omugavu bwe gali. N'akola ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo eky'omuti gwa sita; obuwanvu bwakyo bwali emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo emikono esatu. N'akola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo gaali ga mulimu gumu nakyo; n'akibikkako ekikomo. N'akola ebintu byonna eby'ekyoto, entamu, n'ebijiiko, n'ebibya, n'eby'okukwasa ennyama, n'emmumbiro; ebintu byakyo byonna yabikola n'ebikomo. N'akikolera ekyoto ekitindiro eky'ekikomo ekirukibbwa, wansi w'omuziziko ogukyetooloola wansi, n'akituusa wakati mu bugulumivu obw'ekyoto. N'afumbira empeta nnya ensonda ennya ez'ekitindiro eky'ekikomo, okuba ebifo eby'emisituliro. N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako ekikomo. N'ayingiza emisituliro mu mpeta ez'oku mbiriizi ez'ekyoto okukisitulirangako; yakikola n'embaawo, nga kirina ebbanga munda. N'akola eky'okunaabirangamu eky'ekikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, n'endabirwamu ez'abakazi abaweereza abaaweerezanga ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. N'akola oluggya; ebyatimbibwa eby'oluggya eby'oluuyi olw'obukiikaddyo byali bya bafuta ennungi erangiddwa, emikono kikumi (100); empagi zaabyo zaali abiri (20), n'ebinnya byazo abiri (20), eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo byali bya ffeeza. N'eby'oluuyi olw'obukkiikkakkono emikono kikumi (100), empagi zaabyo abiri (20), n'ebinnya byazo abiri (20), eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. N'ebyatimbibwa eby'oluuyi olw'ebugwanjuba bya mikono ataano, empagi zaabyo kkumi (10), n'ebinnya byazo kkumi (10); ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. N'eby'oluuyi olw'ebuvanjuba ku buvanjuba emikono ataano (50). Ebyatimbibwa eby'oku luuyi olumu oluliko omulyango byali bya mikono kkumi n'etaano (15); empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu (3); n'oluuyi olulala bwe lutyo; eruuyi n'eruuyi ku mulyango ogw'oluggya waaliwo ebyatimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano (15); empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo ssatu. Ebyatimbibwa byonna eby'oluggya eby'enjuyi zonna byali bya bafuta ennungi erangiddwa. N'ebinnya eby'empagi byali bya bikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza; n'emitwe gyazo gyabikkibwako ffeeza; n'empagi zonna ez'oluggya zaateekebwako emiziziko gya ffeeza. N'akatimba ak'oluggi olw'oluggya kaali mulimu gwa mudaliza, ka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; n'obuwanvu bwako bwali emikono abiri (20), n'obugulumivu mu bugazi bwako bwali emikono etaano, okwenkanankana n'ebyatimbibwa eby'oluggya. N'empagi zaabyo zaali nnya, n'ebinnya byazo bina, eby'ebikomo; ebikwaso byazo bya ffeeza, n'eby'okubikka ku mitwe gyazo n'emiziziko gyazo bya ffeeza. N'enninga zonna ez'eweema, n'ez'oluggya okwetooloola, byali bya bikomo. Guno gwe muwendo ogw'ebintu eby'eweema, ye weema ey'obujulirwa, nga bwe byabalibwanga Musa bwe yalagira, olw'okuweereza kw'Abaleevi, mu mukono gwa Isamaali, omwana wa Alooni kabona. Ne Bezaaleeri, omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda ye yakola byonna Mukama bye yalagira Musa. Era wamu naye waaliwo Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani, omusazi w'amayinja, era omukozi ow'amagezi, era omudaliza wa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi. Zaabu yonna gye baakoza omulimu gwonna ogw'awatukuvu, ye zaabu ey'ekiweebwayo, yali ttalanta abiri mu mwenda (29), ne sekeri lusanvu mu asatu (730), nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri. Ne ffeeza ez'abo abaabalibwa ab'ekibiina yali ttalanta kikumi (100), ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano (1,775), nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri: buli muntu beka emu, kye kitundu kya sekeri, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri. Abo abeetaba mu kubalibwa, be bo abaali bawezezza emyaka egy'obukulu abiri (20) n'okusingawo. Baali emitwalo nkaaga, mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550). Ne ttalanta kikumi (100) eza ffeeza zaali za kufumba ebinnya eby'awatukuvu, n'ebinnya eby'eggigi; ebinnya kikumi (100) byava mu ttalanta kikumi (100), buli kinnya ttalanta. Ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano (1,775) n'azikoza ebikwaso eby'empagi, n'abikka ku mitwe gyazo, n'azikolako emiziziko. N'ebikomo eby'ekiweebwayo byali ettalanta nsanvu (70), ne sekeri enkumi bbiri mu bina (2,400). Nabyo n'abikoza ebinnya eby'oluggi olw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, n'ebintu byonna eby'ekyoto, n'ebinnya eby'oluggya okwetooloola n'ebinnya eby'oluggi olw'oluggya, n'enninga zonna ez'eweema, n'enninga zonna ez'oluggya okwetooloola. Ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu; Mukama nga bwe yalagira Musa. N'akola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, erangiddwa. Ne baweesa zaabu, ne bagifuula ebipaapi, ne bagikomolamu obunyere, okugitunga mu kaniki, ne mu lugoye olw'effulungu, ne mu lumyufu, ne mu bafuta ennungi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi. Ne bagikolako eby'okubibegabega ebyagattibwa; yagattibwa ku nsonda zaayo zombi. N'olukoba olw'alangibwa n'amagezi, olwagiriko, okugisibyanga, lwali lwa lugoye lumu nayo era omulimu gwalwo gwafaanana nga yo; lwa zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne balongoosa amayinja aga onuku, ne gayingizibwa mu mapeesa aga zaabu, ne gasalibwako ng'akabonero bwe kasalibwa, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri bwe gaali. N'agateeka ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukizanga eri abaana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'akola eky'omu kifuba, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi, okufaanana ng'omulimu ogw'ekkanzu; kya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa. Kyali kyenkanankana enjuyi zonna; eky'omu kifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu. Ne bakiteekamu ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadiyo, ne topazi, ne kabunkulo lwe lwali olunnyiriri olwolubereberye. N'olunnyiriri olwokubiri ejjinja erya nnawandagala, safiro, ne alimasi. N'olunnyiriri olwokusatu yakinso, sebu, ne amesusito. N'olunnyiriri olwokuna berulo, onuku, ne yasipero; geetooloozebwa zaabu we gaatonebwa. Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri (12), ng'amannya gaabwe bwe gaali; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri (12). Ne bakola ku ky'omu kifuba emikuufu ng'emigwa, egirangiddwa egya zaabu ennungi. Ne bakola amapeesa abiri (2) aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba. Ne bateeka emikuufu gyombi egya zaabu egirangiddwa ku mpeta zombi ku nkomerero ez'eky'omu kifuba. N'enkomerero zombi endala ez'emikuufu gyombi egirangibwa ne baziteeka ku mapeesa gombi, ne bagateeka ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba, ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda. Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku by'oku bibegabega byombi eby'ekkanzu wansi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulukibbwa n'amagezi. Ne basiba eky'omu kifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu, n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibbwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'akola omunagiro ogw'oku kkanzu gwa mulimu ogulangibbwa, gwa kaniki gwonna; n'ekituli eky'omunagiro wakati mu gwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, nga guliko olukugiro okwetooloola ekituli kyagwo, guleme okuyuzibwa. Ne bakola ku birenge by'omunagiro enkomamawanga eza kaniki n'ez'effulungu, n'ez'olumyufu, n'eza bafuta erangibbwa. Ne bakola endege eza zaabu ennungi, ne baziteeka wakati w'amakomamawanga ku birenge by'omunagiro okwetooloola; endege n'ekkomamawanga, endege n'ekkomamawanga, ku birenge by'omunagiro okwetooloola, okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne bakolera Alooni ebizibawo ebya bafuta ennungi eby'omulimu ogulangibbwa, n'abaana be, n'ekiremba ekya bafuta ennungi, n'enkuufiira ennungi eza bafuta ennungi, ne seruwale eza bafuta ennungi erangiddwa, n'olukoba olwa bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, omulimu ogw'omudaliza; nga Mukama bwe yalagira Musa. Ne bakola akapande ak'okungule entukuvu aka zaabu ennungi, ne bakawandiikako ebigambo, ng'ebiwandiikibwa ku kabonero, nti, “OMUTUKUVU ERI MUKAMA.” Ne bakasibako akagoye aka kaniki, okukasiba ku kiremba waggulu; nga Mukama bwe yalagira Musa. Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'Eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa; era abaana ba Isiraeri baakola byonna nga Mukama bye yalagira Musa bwe byali. Ne bagireetera Musa Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; n'eky'okubikkako eky'amaliba g'endiga eza sseddume amannyike amamyufu, n'eky'okubikkako eky'amaliba g'eŋŋonge, n'eggigi eryawulamu; essanduuko ey'obujulirwa, n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'okusaasira; emmeeza, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; ekikondo ekirongoofu, eky'ettaala yaakyo, bye by'ettaala eby'okulongoosebwanga, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta ag'ettabaaza; n'ekyoto ekya zaabu, n'amafuta ag'okufukangako, n'obubaane obulungi, n'akatimba ak'oluggi olw'eweema; ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'Eweema ey'okusisinkanirangamu; ebyambalo ebyakolebwa obulungi eby'okuweererezangamu mu watukuvu, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweererezangamu mu bwakabona. Nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola omulimu gwonna. Musa n'alaba omulimu gwonna, era laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala; Musa n'abasabira omukisa. Mukama n'agamba Musa nti, “Ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwolubereberye olisimba ennyumba ey'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era oligiteekamu essanduuko ey'obujulirwa, era olitimba eggigi ku ssanduuko. Era oliyingiza emmeeza, n'oteekateeka ebintu ebigiriko; n'oyingiza ekikondo, n'okoleeza ettaala zaakyo. Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky'okwoterezangako obubaane mu maaso g'essanduuko ey'obujulirwa, n'oteekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema. Era oliteeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo mu maaso g'omulyango ogw'ennyumba y'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era oliteeka ekinaabirwamu wakati w'Eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okifukamu amazzi. Era olisimba oluggya okwetooloola, n'otimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. Era olitwala amafuta ag'okufukangako, n'ogafuka ku Weema, ne ku byonna ebirimu, n'ogitukuza, n'ebintu byayo byonna; era eribeera entukuvu. Era oligafukako ku kyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo, n'ebintu byakyo byonna, n'otukuza ekyoto; n'ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. Era oligafukako ku kinaabirwamu n'entobo yaakyo, n'okitukuza. Era olireeta Alooni n'abaana be ku mulyango ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi. Era oliyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu; n'omufukako amafuta, n'omutukuza, ampeerereze mu bwakabona. Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo; n'obafukako amafuta, nga bw'ofuse ku kitaabwe, bampeerereze mu bwakabona: era bwe balifukibwako amafuta, kiribabeerera obwakabona obutalibavaako mu mirembe gyabwe gyonna.” Musa n'akola bw'atyo; nga byonna Mukama bye yamulagira, bwe yakola bw'atyo. Awo olwatuuka mu mwezi ogwolubereberye ogw'omwaka ogwokubiri, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi, Eweema n'esimbibwa. Musa n'asimba eweema, n'ateekawo ebinnya byayo, n'ayimiriza embaawo zaayo, n'ayingiza emiti gyayo, n'awangiza empagi zaayo. N'atimba eweema ku nnyumba, n'agiteekako kungulu eky'okubikkako; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'atwala obujulirwa n'abuteeka mu ssanduuko, n'assa emisituliro ku ssanduuko, n'ateeka entebe ey'okusaasira kungulu ku ssanduuko; n'ayingiza ssanduuko mu Weema, n'atimba eggigi eryawulamu, n'asiikiriza essanduuko ey'obujulirwa; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'ateeka emmeeza mu Weema ey'okusisinkanirangamu, ku luuyi olw'eweema olw'obukiikakkono, ebweru w'eggigi. N'ateekateeka emigaati mu maaso ga Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'ateeka ekikondo mu Weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'emmeeza, ku luuyi olw'Eweema olw'obukiikaddyo. N'akoleeza ettaala mu maaso ga Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'ateeka ekyoto ekya zaabu mu Weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'eggigi; n'akyoterezaako obubaane obw'ebyakaloosa obulungi; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'ateekawo akatimba ak'oluggi olw'Eweema. N'ateeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo ku mulyango ogw'ennyumba ey'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'akiweerako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'ateeka ekinaabirwamu wakati w'Eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'akifukamu amazzi, okunaabiramu. Musa ne Alooni n'abaana be ne bakinaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe; bwe baayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu, era bwe baasembereranga ekyoto, banaabanga, nga Mukama bwe yalagira Musa. N'asimba oluggya okwetooloola Eweema n'ekyoto, n'atimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. Bw'atyo Musa n'amala omulimu. Ekire ne kiryoka kibikka ku Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. Musa n'atayinza kuyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, kubanga ekire kyagituulako, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. Era ekire bwe kyaggibwanga ku Weema, abaana ba Isiraeri ne batambulanga, mu lugendo lwabwe lwonna; naye ekire bwe kitaggibwangako, ne batatambulanga okutuusa ku lunaku lwe kyaggibwangako. Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema emisana, n'ekiro ne mubangamu omuliro, mu maaso g'ennyumba ya Isiraeri yonna, mu lugendo lwabwe lwonna. Awo Mukama n'akoowoola Musa n'ayogera naye mu Weema ey'okusisinkanirangamu ng'agamba nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti omuntu yenna mu mmwe bwawangayo ekiweebwayo, anaakiggyanga ku nte ze, oba ku mbuzi ze. “Bw'anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema; anaagiweerangayo ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama. Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira. Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, ne bagumansira ku njuyi zonna ez'ekyoto ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Awo anaabaaganga ekiweebwayo ekyokebwa era anaakisalangamu ebitundu byakyo. Awo abaana ba Alooni kabona, banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro; awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto; naye ebyenda byayo n'amagulu gaayo anaabinaazanga n'amazzi; awo kabona anaayokeranga byonna ku kyoto, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. “Era bw'anaawangayo ku ndiga ze oba ku mbuzi ze, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, anaawangayo nnume eteriiko bulema. Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiikakkono mu maaso ga Mukama; n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna. Awo anaagisalangamu ebitundu byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo; awo kabona anaabiteekateekanga ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto; naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi; awo kabona anaawangayo byonna, anaabyokeranga ku kyoto; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. “Era bw'anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukamukuukulu oba amayiba amato. Awo kabona anaakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyako, n'akookera ku kyoto; n'omusaayi gwako gunaatonnyeranga ku mabbali g'ekyoto; awo anaakaggyangamu ekisakiro kyako n'ebikirimu n'abisuula ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kifo eky'evvu; era anaakayuzanga n'ebiwawaatiro byako, takasalangamu. Awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. “Era omuntu yenna bw'awangayo ekiweebwayo eky'obutta eri Mukama, kinaabanga kya butta bulungi; era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu; awo anaakireeteranga abaana ba Alooni bakabona. Kabona anaayolangako olubatu olw'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta n'omugavu n'abwokera ku kyoto, okuba ekijjukizo eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. Ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be; kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro. “Era bw'anaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obwokeddwa mu kabiga, kinaabanga kya migaati egitazimbulukusiddwa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukusiddwa egisiigiddwako amafuta. Era bw'onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta bulungi obutazimbulukusiddwa obutabuddwamu amafuta. Onookimenyangamu obutundu n'obufukako amafuta; kye kiweebwayo eky'obutta. Era bw'onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta obulungi obutabuddwamu amafuta. Awo onooleetanga ekiweebwayo ekyo eky'obutta eri Mukama; ne kabona anaakitwalanga ku kyoto. Awo kabona anaatoolanga ku kiweebwayo eky'obutta ng'ekijjukizo; n'akyokera ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be; kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro. Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekitabuddwamu ekizimbulukusa; temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ebiweebwayo eky'ebibereberye; naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi. Era buli kiweebwayo ky'onoowangayo on'okirungangamu omunnyo, kubanga omunnyo ke kabonero ak'endagaano wakati wo ne Mukama. “Era bw'onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye eri Mukama, onoowangayo eŋŋaano embisi, embetentere mu birimba byayo eyokeddwa n'omuliro. Era onoogifukangako amafuta, noogiteekangako omugavu; ekyo kye kiweebwayo eky'obutta. Era kabona anaayokyanga ekitundu ky'eŋŋaano embetente, n'ekitundu ky'amafuta, wamu n'omugavu gwakyo gwonna; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. “Era omuntu bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe, ku nte oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama. Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. Era bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaawangayo amasavu agabikka ku byenda n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, anaabiggyangako. Awo abaana ba Alooni banaabyokeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. “Era Omuntu bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema. Bw'anaawangayo omwana gw'endiga okuba ekiweebwayo kye, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe bw'ekiweebwayo kye, n'agittiranga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'ekyoto. Era bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; anaawangayo amasavu gaayo, omukira omusava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo, n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, anaabiggyangako. Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto; ng'eky'okulya ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. “Era bw'anaawangayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'ekyoto. Awo ku kiweebwayo ekyo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi ku kibumba anaabiggyangako. Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba eky'okulya eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi. Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.” Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo; kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; anaawangayo eri Mukama ente ennume envubuka, eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ky'akoze. Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'agittira mu maaso ga Mukama. Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'olutimbe olw'awatukuvu. Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Anagiggyangamu amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba anaabiggyangako, nga bwe gaggyibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa. Eddiba ly'ente, ennyama, omutwe, amagulu, eby'enda n'obusa bwayo, byonna anaabitwalanga ebweru w'olusiisira, mu ekifo ekyateekebwawo ekiyiibwamu evvu; abyokerenga eyo.” Era ekibiina kyonna ekya Isiraeri bwe kinaasobyanga, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'ekitamanyibwa abasinga obungi mu kibiina, nga bazizza omusango. Amangu ng'ekibi ekyo kye bakoze kimanyiddwa, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, banaagiretanga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama; ne bagittira mu maaso ga Mukama. Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw'ente mu Weema ey'okusisinkanirangamu; awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama mu maaso g'eggigi. Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna n'agookera ku kyoto. Bw'atyo bw'anaakolanga ente eno; kabona anaatangiriranga abantu ne basonyiyibwa. Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente eyolubereberye; kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina. “Omukulembeze yenna bw'ayonoonanga, nga tagenderedde mu kigambo kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango; Era bw'anaategeezebwanga ky'ayonoonye, anaaleetanga embuzi ennume eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo kye; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; kye kiweebwayo olw'ekibi. Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto. Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasonyiyibwanga. “Era omuntu yenna owa bulijjo bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, n'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango; bw'anaategeezebwanga ekibi ky'akoze, anaaleetanga embuzi enkazi eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi kye. Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa. Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa. Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna nga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga. “Era bw'anaaleetanga omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko bulema. Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa. Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa. Anaggyangamu amasavu gaayo gonna, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro ekya Mukama; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, naye anaasonyiyibwanga. “Omuntu bw'alayizibwa okuwa obujulizi, n'atayogera kye yalaba oba kye yamanya, aba azzizza omusango. Era omuntu yenna bw'anakomanga ku kintu ekitali kirongoofu nga kifudde, oba nsolo ya mu nsiko, oba ya mu nnyumba, oba ekyewalula nga tagenderedde, anaabanga atali mulongoofu era aliko omusango. Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku muntu atali mulongoofu nga tagenderedde, bw'anaakimanyanga anaabangako omusango. Era omuntu yenna bw'anaayanguyirizanga okulayira okukola obubi oba obulungi nga tagenderedde, bw'anaakimanyanga anaabangako omusango mu ekyo ky'alayidde. Awo bw'anaategeeranga ekyo ky'ayonoonye anaakyatulanga. Anaaleetanga ekiweebwayo olw'omusango eri Mukama olw'ekibi ky'ayonoonye, omwana gw'endiga enkazi, oba embuzi enkazi ey'omu kisibo, ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze. “Bw'anaabanga n'ebintu ebitono nga tasobola mwana gwa ndiga oba mbuzi, kale anaaleetanga eri Mukama bu kaamukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri okuba ekiweebwayo olw'omusango olw'ekigambo ky'ayonoonye; akamu ka kiweebwayo olw'ekibi n'ak'okubiri ka kiweebwayo ekyokebwa. Anaabuleeteranga kabona, naye anaasookanga okuwaayo ak'ekiweebwayo olw'ekibi ng'anyoola omutwe gwako, naye n'atagukutulako, era n'atakasalamu. Awo n'amansira ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi ku mabbali g'ekyoto, n'omusaayi ogusigaddewo anaagutonnyezanga ku ntobo y'ekyoto; ky'ekiweebwayo olw'ekibi. Ak'okubiri anaakawangayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ng'ekiragiro bwe kiri; ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, naye anaasonyiyibwanga. “Bw'anaabanga n'ebintu ebitono nga tasobola kuwaayo bu kaamukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri, kale anaaleetanga ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ky'akoze, naye tateekangako mafuta wadde omugavu. Anaabuleetanga eri kabona, naye anaayolangako olubatu ng'ekijjukizo, n'abwokera ku kyoto eky'ebiweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro; kye kiweebwayo olw'ekibi. Awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, mu bigambo ebyo byonna, naye anaasonyiyibwanga; n'ekitundu eky'obutta ekinafikkangawo kinaabanga kya kabona.” Mukama n'agamba Musa nti, “Omuntu yenna bw'anaasobyanga mu bigambo ebitukuvu ebya Mukama nga tagenderedde; anaaletaanga endiga ennume eteriiko bulema ey'omukisibo eri Mukama, okuba ekiweebwayo olw'omusango, ng'ebalirirwamu omuwendo omutongole ogwa sekeri y'omuwatukuvu. Era anaaleetanga n'ekyo kye yalemererwa okusasula, n'ayongeramu ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano, n'akiwa kabona, anaamutangiriranga n'endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango, naye anaasonyiyibwanga. “Era omuntu yenna bw'anaayonoonanga, nga tagenderedde n'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, ng'aliko omusango era anaabangako obubi bwe. Anaatoolanga endiga ennume eteriiko bulema ng'agiggya mu ndiga ze, nga bw'anaasalirwanga okuba ekiweebwayo olw'omusango, ne kabona anaamutangiriranga naye, anaasonyiyibwanga. Kye kiweebwayo olw'omusango; olw'oyo aliko omusango mu maaso ga Mukama.” Mukama n'agamba Musa nti, “Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu ebyo bye yateresebwa; oba ebyo ebyamusingirwa oba n'amunyaga oba n'amujooga; oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba mu bigambo byonna ku ebyo byonna omuntu byakola ng'ayonoona bw'atyo, kale anaabanga ayonoonye, era ng'aliko omusango. Annaazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyamuteresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula, oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo ekyokutaano; alikiwa nannyini kyo ku lunaku lw'alizuulibwa ng'aliko omusango. Era anaaleetanga eri kabona endiga ennume eteriiko bulema ey'omukisibo, nga bw'onosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusango eri Mukama. Ne kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu ebyo byonna bye yasobya.” Mukama n'agamba Musa nti, “Lagira Alooni n'abaana be nti lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga. Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta; kale anaatwalanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro n'aliteeka ku mabbali g'ekyoto. Awo anaayambulangamu ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira mu kifo weriyiibwa. Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayongerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe. Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto ekiseera kyonna obutazikiranga. “Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiweerangayo mu maaso ga Mukama, mu maaso g'ekyoto. Era anaayolangako olubatu olw'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta n'omugavu, n'abwokera ku kyoto, okuba ekijjukizo eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. N'ekyo ekinaafikkangawo, nga tekirimu kizimbulukusa, Alooni n'abaana be banaakiriranga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Tekyokebwanga nga kitabuddwamu ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango. Buli musajja ku baana ba Alooni, ng'etteeka ennaku zonna, mu mirembe gyammwe gyonna, banaalyanga ku biweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.” Mukama n'agamba Musa nti, “ Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta: ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi. Bunaagoyebwanga n'amafuta ku kikalango; on'obuleetanga nga butabuddwa bulungi mu bitole ebyokeddwa, nga bwe kiri mu kiweebwayo eky'obutta, okuba evvumbe eddungi eri Mukama. Era kabona ava mu lubu lwa Alooni, eyafukibwako amafuta okumusikira, anaakiwangayo eri Mukama, ne kyokebwa kyonna, ng'etteeka eritajjulukuka ennaku zonna. Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna; tekiriibwanga.” Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni n'abaana be nti, Lino ly'etteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa, n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama; kye kitukuvu ennyo. Kabona akiwaayo olw'ekibi y'anaakiryanga; kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu; era omusaayi bwe gunaamansirwanga ku kyambalo kyonna, kinaayolezebwanga mu kifo ekitukuvu. Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga; era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaakuutibwanga era ne kinyumunguzibwa n'amazzi. Buli musajja ku bakabona anaakiryangako; kye kitukuvu ennyo. So tewabangawo kiweebwayo olw'ekibi ekitooleddwako omusaayi gwakyo nga guyingizibbwa mu Weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, ekinaalibwangako; wabula kinaayokebwanga n'omuliro.” “Era lino ly'etteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: Ky'ekitukuvu ennyo. Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango; n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku njuyi zonna ez'ekyoto. Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba anaabiggyangako; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango. Buli musajja ku bakabona anaakiryangako; kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu; kye kitukuvu ennyo. Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kityo, etteeka lyabyo lye limu; kabona anaakitangirizanga y'anaakitwalanga. Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo. Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo. Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta oba ekitatabuddwamu, kinaatwalibwanga abaana ba Alooni bonna ne bakigabana kyenkanyi. “Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, omuntu by'anaawangayo eri Mukama. Omuntu bw'anaagiwangayo olw'okwebaza, kale anaagiweerangayo wamu ne ssaddaaka ey'okwebaza, ey'emigaati egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta obunnyikidde. Ku ssaddaaka ey'emirembe gy'awaayo olw'okwebaza, anaaleterangako n'emigaati egizimbulukusiddwa. Era ku ssaddaaka ey'emirembe anaawangayo omugaati gumu ku buli kiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe. Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya. Bw'anaawangayo ssaddaaka nga ya bweyamo oba gy'awaayo nga yeeyagalidde, eneeriibwanga ku lunaku olwo lw'agiwaddeyo, era eneefikkangawo eneeriibwanga n'enkya; naye bw'eneefikkanga okutuusa ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga n'omuliro. Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama taagikkirizenga nga ssaddaaka. Eneebanga ya muzizo, era omuntu anaagiryangako anaafuukanga atali mulongoofu. Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwenga; eneeyokebwanga n'omuliro. Ennyama eyo, buli mulongoofu ye anaagiryangako. Naye omuntu atali mulongoofu bw'anaalyanga ku ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekya Mukama anaaboolebwanga okuva mu bantu be. Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu, oba obutali bulongoofu obw'omuntu oba obw'ensolo, oba ekintu ekirala kyonna eky'omuzizo; n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ebya Mukama, anaaboolebwanga okuva mu bantu be.” Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, Temulyanga ku masavu ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi. Amasavu g'eyo efa yokka, n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo, ganaabanga ag'emirimu emirala gyonna; temugalyangako n'akatono. Buli alya ku masavu g'ensolo eweebwayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaaboolebwanga mu bantu be. Mu nnyumba zammwe zonna, temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, oba gwa nnyonyi oba gwa nsolo. Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, anaaboolebwanga mu bantu be.” Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaawangayo ssaddaaka olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekiweebwayo kye eri Mukama; ye yennyini anaaleetanga ebiweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro mu ngalo ze. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama. Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto; naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be. N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ku ssaddaaka z'ebyo bye muwaayo olw'emirembe. Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaatwalanga ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe. Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nzigye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, mbiwadde Alooni kabona n'abaana be, okuba omugabo gwabwe emirembe gyonna. Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggyibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, ku lunaku lwe baafukibwako amafuta okuweereza Mukama mu bwakabona. Guno gwe gunaabanga omugabo gwabwe mu mirembe gyabwe gyonna.” Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'obutta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango, n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; Mukama lye yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yagambirako abaana ba Isiraeri okuwangayo ebiweebwayo byabwe eri Mukama. Mukama n'agamba Musa nti, “Twala Alooni n'abaana be, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okubafukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu emigaati egitazimbulukusiddwa; okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.” Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Musa n'agamba ekibiina nti, “Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola.” Musa n'aleeta Alooni n'abaana be, n'abanaaza n'amazzi. N'ayambaza Alooni ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amussaako omunagiro, n'amwambaza ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olukoba olwo. N'amussaako eky'oku kifuba; ne mu ky'okukifuba n'ateekamu Ulimu ne Sumimu. N'amusiba ekiremba ku mutwe, era awo mu maaso gaakyo n'akisibako akapande aka zaabu, ye ngule entukuvu, nga Mukama bwe yamulagira. Musa n'addira amafuta, n'agafuka ku Weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza. N'amansirako ne ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu, n'entobo yaakyo, okubitukuza. N'afuka amafuta ku mutwe gwa Alooni okumutukuza Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yamulagira. N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi. N'agitta; Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ku enjuyi zonna, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitangirira okukitukuza. Musa n'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'abyokera ku kyoto. Naye ennyama esigaddewo, n'eddiba, n'obusa n'abyokera ebweru w'olusiisira nga Mukama bwe yamulagira. N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. N'agitta; Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. N'asala mu ndiga ebitundu byayo; omutwe, n'ebitundu, n'amasavu n'abyokya. N'anaaza n'amazzi ebyenda n'amagulu gaayo. Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto; yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi; yali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, nga Mukama bwe yamulagira. N'aleeta endiga ennume eyokubiri, endiga ey'okwawula; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. Musa n'agitta; n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwe okwa ddyo, N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga omusaayi ku nsonda y'amatu gaabwe aga ddyo, ne ku bigere ebisajja eby'amagulu gaabwe aga ddyo, n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. N'addira amasavu, n'omukira omusava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'okukibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo; ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukusiddwa ekyali mu maaso ga Mukama, n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukusiddwa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo; byonna n'abiteeka mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa; byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi, kyali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yamulagira. Musa n'atoola ku mafuta ag'okutukuza, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo byabwe; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be n'ebyambalo byabwe. Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti, “Mufumbire ennyama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagirwa nti, ‘Alooni n'abaana be be banaabiryanga.’ Era ekinaafikkawo ku nnyama ne ku migaati, munaakyokya n'omuliro. So temufulumanga mu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe ziriggwaako; kubanga alibaawulira ennaku musanvu. Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira. Era ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.” Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira ng'ayita mu Musa. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri; n'agamba Alooni nti, “Twala ente ennume ento okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa; nga teziriiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama. Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti, ‘Mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, eziwezezza omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta; kubanga leero Mukama anaabalabikira.’ ” Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama. Musa n'ayogera nti, “Bino Mukama bye yabalagira okukola; era ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira.” Musa n'agamba Alooni nti, “Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu; oweeyo ekiweebwayo eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.” Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe. Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi; n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, naye amasavu n'ensigo n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera ku kyoto; nga Mukama bwe yalagira. Ennyama n'eddiba n'abyokera ebweru w'olusiisira. N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna. Ne bamuleetera ebitundutundu bye kiweebwayo ekyokebwa kinnakimu, n'omutwe; n'abyokera ku kyoto. N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. N'aleeta ekiweebwayo olw'ekibi ku lw'abantu; naddira embuzi n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga bwe yakoze eyolubereberye. N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali. N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako olubatu, n'abwokera ku kyoto awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya. Era n'atta ente n'endiga ennume, okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ku lw'abantu. Abaana be ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna. Naddira n'amasavu g'ente n'ag'omukira gw'endiga n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekitundu ekisinga obulungi ku kibumba; n'abiteeka ku bifuba eby'ensolo ezo, n'abireeta awali ekyoto n'addira amasavu n'agookera ku kyoto. Alooni n'addira ebifuba n'ebisambi ebya ddyo n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama nga Musa bwe yalagira. Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'akka ng'amaze okuwaayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiweebwayo olw'emirembe. Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu, bwe baafuluma, ne basabira abantu omukisa; awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna. Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu; awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu, ne bavuunama amaaso gabwe okuwa Katonda ekitiibwa. Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako eby'okwoteza, ne bawaayo omuliro omulala Mukama gw'ataalagira. Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira mu maaso ge. Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti, “Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti, ‘Naatukulizibwanga mu abo abampeereza era n'agulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Alooni ne yeesirikira. Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri, kojja wa Alooni, n'abagamba nti, “Musembere, musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye mu Weema entukuvu, mugitwale ebweru w'olusiisira.” Awo ne basembera, ne basitulira emirambo mu ngoye zaagyo ne bagitwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bwe yalagira. Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti, “Temutankuula nviiri zammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era Mukama aleme okusunguwalira ekibiina kyonna; naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya okwo Mukama kw'ayokezza. Temufuluma mu mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa; kubanga amafuta ga Mukama ag'okutukuza gali ku mmwe.” Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali. Mukama n'agamba Alooni nti, “Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza kyonna, ggwe n'abaana bo, bwe munaabanga mugenda okuyingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu muleme okufa. Lino linaabanga etteeka eritalijjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna. Mwawulengamu ebya Katonda okuva ku bikozesebwa ebya bulijjo, ebyo ebirongoofu, n'ebitali birongoofu; era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna ge nnabalagira nga mpita mu Musa.” Musa n'agamba Alooni ne batabani be abaasigalawo: Eriyazaali ne Isamaali nti, “Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo eri Mukama ebyokebwa n'omuliro, era nga tekizimbulukusiddwa, mukiriire ku mabbali g'ekyoto, kubanga kye kitukuvu ennyo; era munaakiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo n'abaana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa. Naye ekifuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, n'ekisambi ekisitulibwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo munaabiriiranga mu kifo ekirala kyonna ekirongoofu, kubanga ebyo byabaweebwa okuba omugabo gwammwe ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe. Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; era binaabanga bibyo, n'abaana bo, okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna, nga Mukama bwe yalagira.” Awo Musa n'abuuza ebifa ku mbuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'azuula nga yayokeddwa dda. N'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti, “Lwaki temwaliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo ekitukuvu? Ekiweebwayo ekyo kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu maaso ga Mukama. Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; mwandikiriiridde mu watukuvu, nga bwe nnalagira.” Awo Alooni n'agamba Musa nti, “Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi, n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era onnenyezza olw'ebyo, kale singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama?” Kale Musa bwe yawulira ebyo, n'amatira. Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni n'agamba nti, “Mugambe abaana ba Isiraeri nti bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi. Buli nsolo erina ekinuulo ekyawulemu, era erina ekigere ekyaseemu, era ezza obwenkulumu, eyo gye munaalyanga. Naye Zino ze mutalyanga ku ezo ezizza obwenkulumu oba ku ezo ezaawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli. Omusu, kubanga guzza obwenkulumu naye tegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli. Akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli. Embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo, era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli. Temulyanga ku nnyama yaazo, so temuzikomangako nga zifudde, kubanga si nnongoofu gye muli. “Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga. Ebyo bye munaalyanga. Naye buli kiramu ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magamba, kinaabanga kya muzizo gye muli. Binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, so temubikomangako nga bifudde. Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli. “Nazino ze nnyonyi ez'omuzizo zemutalyenga: ennunda, n'empungu, ne makwanzi; kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo; nnamuŋŋoona n'engeri ye; maaya, olubugabuga, olusove, n'enkambo n'engeri yaayo; ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkukufu; ekiwuugulu eky'amatu, kimbala, n'ensega; kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, ekkookootezi, n'ekinyira. “Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro era ebitambuza amagulu ana, binaabaanga bya muzizo gye muli. Naye bino bye muyinza okulya ku biwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro era ebitambuza amagulu ana: ebyo ebibuukabuuka n'amagulu gaabyo ku ttaka. Bino bye muyinza okulya ku ebyo: enzige n'engeri yaayo, enseenene n'engeri yaayo, akanyeenyenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo. Naye ebiwuka ebirala ebirina ebiwaawaatiro, eby'amagulu ana bya muzizo gye muli. “Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaabikomangako nga bifudde anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era buli asitula efudde ku zo, anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era nga terina kigere kyaseemu, ate nga tezza bwenkulumu, si nnongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu. Era buli nsolo ey'amagulu ana etambuza ebibatu byayo, si nnongoofu gye muli; buli anaagikomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ensolo zino si nnongoofu gye muli, era n'oyo anaazisitulanga nga zifudde anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. “Ku ebyo ebitambulira ku ttaka, bino si birongoofu gye muli: eggunju, emmese, ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo, ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu. Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebitambulira ku ttaka; buli anaabikomangako nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era ekimu ku ebyo ekifudde, bwe kinaagwanga ku kintu kyonna, kinaakifuulanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo oba kintu kyonna kyonna, ekikozesebwa omulimu gwonna, kinaateekebwanga mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu. Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo munaakyasanga. Buli ekiriibwa bwe kinaayikangako amazzi agavudde mu kye bbumba ekitali kirongoofu; kinaabanga ekitali kirongoofu, era buli kya kunywa ekinanywebwanga okuva mu ky'ebbumba ekyo, kinaabanga ekitali kirongoofu. Era buli kintu ekinaagwibwangako ekintu kyonna ku ebyo ebifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; oba nga kigudde ku kabiga, oba masiga, kinaamenyebwamenyebwanga; si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli. Naye oluzzi oba ekidiba bwe kinaafiirangamu ekimu ku ebyo ebitali birongoofu, oluzzi olwo n'ekidiba binaasigalanga nga birongoofu, naye ekinaakomanga ku ekyo ekifiiriddemu, kinaabanga ekitali kirongoofu. Era oba nga ekitali kirongoofu ekifudde, kikoma ku nsigo yonna ey'okusiga, yo eneesigalanga nga nnongoofu; Naye singa ensigo eba ennyikiddwa mu mazzi, ekimu ku ebyo ekifudde ne kimala kigikomako, eneefuukanga eteri nnongoofu gye muli. “Era oba ng'ensolo yonna, eriibwa efa, akoma ku yo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaagiryangako anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era n'oyo anaagiggyangawo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. “Buli ekitambula nga kyewalula ku ttaka kya muzizo; tekiriibwanga. Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo. Temweyonoonesanga na kyewalula kyonna, muleme okuba abatali balongoofu. Kubanga nze Mukama Katonda wammwe; kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu. Temweyonoonanga na ngeri yonna ey'ekyewalula ku nsi so. Kubanga nze Mukama eyabaggya mu nsi ey'e Misiri okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.” Eryo lye tteeka erikwata ku nsolo ne ku nnyonyi, na ku buli kitonde ekiramu ekitambulira mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalulira ku nsi, okwawulangamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ebiramu ebiriibwa n'ebitaliibwa. Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye. Awo ku lunaku olw'omunaana omwana omulenzi anaakomolebwanga. Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu (33) okutuusa ng'omusaayi ogumuvaamu olw'okuzaala nga gulekedde awo. Mu kiseera ekyo taakomenga ku kintu kyonna ekitukuvu, era taayingirenga mu kifo ekitukuvu. Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, anaabanga atali mulongoofu okumala Ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga (66) nga si mulongoofu okutuusa ng'omusaayi ogumuvaamu olw'okuzaala gulekedde awo. Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga, ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka erifuga omukazi azaala omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala. Bw'ataasobolenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi; kale kabona anaamutangiriranga, naye anaabanga mulongoofu.” Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba oba kubutuka oba mbalabe erungudde ku lususu lwe, ekiyinza okuvaamu endwadde y'ebigenge, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona. Kabona anaakeberanga endwadde eri ku lususu; era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, n'ekifaananyi ky'endwadde nga kisensedde wansi w'olususu, eyo nga ye ndwadde y'ebigenge. Awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu. Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku lususu, naye ekifaananyi kyayo nga tekisensedde wansi w'olususu, n'obwoya bwawo nga tebwerukiridde, kale kabona anaamwawulanga mu bantu okumala ennaku musanvu. Awo ku lunaku olw'omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo, nga tebunye lususu lwonna, anaddangamu okumwawula mu bantu ennaku musanvu endala. Awo ku lunaku olw'omusanvu, kabona anaamukeberanga nate, era endwadde bw'enaabanga tekyalabika nnyo, nga tebunye ku lususu, anaamwatuliranga nga mulongoofu, nga kubadde kubutuka bubutusi; anaayozanga engoye ze, n'aba nga mulongoofu. Naye okubutuka bwe kunaabunanga ku lususu ng'amaze okweraga eri kabona, olw'okulongoosebwa kwe, anaddangamu okweraga nate eri kabona. Kabona anaamukeberanga, era okubutuka bwe kunaabanga kubunye ku lususu, anaamwatuliranga nti alwadde ebigenge; si mulongoofu. “Endwadde y'ebigenge bw'eba ng'ekutte omuntu, anaaleetebwanga eri kabona; kabona anaamukeberanga, kale ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku lususu era nga kifudde obwoya okuba obweru era ekizimba nga kirungudde; ebyo nga bye bigenge ddala ddala, era kabona anaamulangiriranga nga si mulongoofu. Era endwadde y'olususu bw'efuutukanga, n'ebuna omubiri gwonna ogw'omulwadde okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, kabona anaamukeberanga, awo kabona bw'anaalabanga nga byeru bweru ku lususu, anaamwatuliranga nga mulongoofu. Olususu bwerunaalunguulanga, anaabanga atali mulongoofu. Awo kabona anaakeberanga awalungudde, n'amwatulira nti alwadde ebigenge; si mulongoofu. Naye okulunguula bwe kukyukanga nate ne kufuuka olususu olweru, kale anajjanga eri kabona, kabona anaamukeberanga era bw'anaalabanga ng'olususu lufuuse olweru, kale anaayatuliranga omulwadde nti mulongoofu.” “Omuntu bw'analwalanga ejjute neriwona, awabadde ejjute ne waddawo ekizimba ekyeru oba embalabe erungudde enjeruyeru oba emyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona. Awo kabona anaakeberanga, era ekizimba bwe kinaalabikanga nga kisensedde wansi w'olususu n'obwoya bwawo nga bwerukiridde, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu; nga ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute. Naye kabona bw'anaakikeberanga, era laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekisensedde wansi w'olususu era nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamwawulanga okumala ennaku musanvu. Awo bwe kinaabunanga ku lususu, kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu; eyo y'endwadde y'ebigenge. Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, era nga tebunye, eyo nga ye nkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu. “Omuntu bw'anayokebwanga omuliro ku lususu ne kubaako embalabe erungudde, enjeruyeru oba emmyukirivu, awo kabona anaagikeberanga, era bwe wanaalabikanga ng'obwoya obw'omu mbalabe erungudde nga bwerukiridde era ng'embalabe esensedde wansi w'olususu; ebyo nga bye bigenge ebifulumye awayokebbwa. Kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu. Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tesensedde wansi w'olususu, naye nga terabika bulungi, kale kabona anaamwawulanga okumala ennaku musanvu. Awo ku lunaku olw'omusanvu, kabona anaamukeberanga nate, bw'anaakizuulanga ng'endwadde ebunye ku lususu lwonna, kale anaamwatuliranga nga si mulongoofu, eyo nga y'endwadde ey'ebigenge. Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku lususu, era ng'okulunguula kukendedde, ekyo nga kye kizimba eky'okwokebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu; kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa. “Omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'endwadde ku mutwe oba ku kalevu, kabona anaakeberanga endwadde eyo, era bw'anaakizuulanga ng'esensedde wansi w'olususu era nga mulimu n'e nviiri eza kyenvu ez'entalaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu, ekyo nga kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kalevu. Era kabona bw'anaakeberanga oyo alwadde ekikakampa n'alaba nga tekisensedde wansi w'olususu, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamwawulanga okuva mu bantu okumala ennaku musanvu. Awo oluvannyuma lw'ennaku musanvu, kabona anaamukeberanga nate, bw'anaakizuulanga ng'ekikakampa tekibunye mu mutwe oba ku kalevu, era nga tewali nviiri za kyenvu, era nga tekisensedde wansi w'olususu, kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era anaamwawulanga okuva mu bantu, okumala ennaku musanvu endala. Awo oluvannyuma lw'ennaku musanvu, kabona anaakeberanga ekikakampa nate, bw'anaakizuulanga nga tekibunye lususu lwonna, era nga tekisensedde wansi waalwo, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu, era anaayozanga engoye ze n'aba mulongoofu. Naye ekikakampa bwe kinaabunanga ku lususu ng'amaze okulongoosebwa; awo kabona anaamukeberanga; bw'anaalabanga ng'ekikakampa kibunye ku lususu, tanoonyanga nviiri za kyenvu, oyo si mulongoofu. Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo nga mulongoofu; kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu. “Era omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'embalabe enjeru ezirungudde ku lususu lwe; kale kabona anaamukeberanga; awo embalabe ezirungudde, eziri ku lususu bwe zinaabanga enjeruyeru, nga bwe butulututtu obufulumye mu lususu; oyo nga mulongoofu.” “Era omusajja bw'anaabanga akuunyuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; era nga mulongoofu. Era bw'anaabanga akuunyuse enviiri ez'omu kawompo, nga wa kiwalaata kya mu kawompo; naye nga mulongoofu. Naye endwadde enjeruyeru era emmyufumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawompo ak'ekiwalaata; ebyo nga bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawompo ke ak'ekiwalaata. Awo kabona anaamukeberanga; kale, laba, ekizimba bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawompo ke ak'ekiwalaata, ng'endwadde y'ebigenge bw'ebeera ku lususu; Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu olw'ebigenge ebiri ku mutwe gwe.” “Omugenge anaayambalanga engoye enjulifuyulifu, n'enviirize tazisibangako, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayogereranga waggulu nti, Siri mulongoofu, siri mulongoofu. Ekiseera kyonna ky'anaamalanga nga mulwadde, anaabeeranga atali mulongoofu; anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira.” Era ekyambalo kyonna ekiriko endwadde y'ebigenge, oba kya byoya bya ndiga, oba kya bafuta; bwe bibanga mu wuuzi ez'olugoye lw'ekyambalo, oba kya bafuta oba kya byoya, oba kya ddiba, oba ku kintu ekikoleddwa mu ddiba, era endwadde bw'ebanga eyakiragala oba mmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba oba ku wuuzi ez'olugoye, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ye ndwadde ey'ebigenge era eneeragibwanga kabona. Awo kabona anaakeberanga endwadde, n'ayawula ekyambalo ekiriko endwadde okumala ennaku musanvu. Oluvannyuma lw'ennaku omusanvu, kabona anaddangamu n'akebera ekyambalo nate, endwadde bw'eneerabikanga ng'ebunye ku kyambalo kyonna oba ku ddiba, oba ku kintu kyonna ekikolebwa mu ddiba; ebyo nga bye bigenge ebizibu ennyo; nga si kirongoofu. Ekyambalo kyonna oba kya wuuzi, oba kya byoya, oba kya bafuta oba kya kintu ekikolebwa mu ddiba ekiriko ebigenge ebizibu ennyo kinaayokebwanga n'omuliro. Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde tebunye mu kyambalo ekyo, newakubadde ekintu kyonna ekikoleddwa mu ddiba; awo kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, era anaakyawulanga okumala ennaku musanvu endala. Awo kabona bw'anaakeberanga ekyambalo, oba ekintu kyonna ekimaze okwozebwa, n'alaba ng'endwadde tekyusizza langi yaayo, so nga tebunye wonna; oba kungulu w'ekyambalo oba ekintu ekirala kyonna, nga si kirongoofu; anaakyokyanga n'omuliro. Oluvannyuma lw'okwoza ekyambalo, kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde teyeeyongedde kusaasaana, kale anaayuzangawo ekiwero awali endwadde. Naye bw'anaakizuulanga oluvannyuma lw'okwozebwa ng'endwadde esaasaana busaasaanyi, anaakyokyanga. N'ekyambalo kyonna eky'olugoye oba eky'ekintu kyonna eky'eddiba bwe kinaayozebwanga n'ekirabika ng'endwadde evuddemu, kinaayozebwanga nate omulundi ogwokubiri ne kiryoka kiba kirongoofu. Eryo lye tteeka ly'endwadde y'ebigenge erikwata ku kyambalo kyonna oba kya byoya, oba kya bafuta, oba kya kintu kyonna ekikolebwa mu ddiba; okunasinziirwanga okukirangirira oba nga kirongoofu oba nga si kirongoofu. Mukama n'agamba Musa nti, “Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge anaaleetebwanga eri kabona ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe. Kabona anaafulumanga mu lusiisira n'amukebera, bw'anaalabanga ng'endwadde y'ebigenge ewonye, kabona anaalangiriranga baleetere oyo agenda okulongoosebwa ennyonyi ennongoofu ennamu bbiri, omuti omwerezi, olugoye olumyufu n'ezobu. Awo kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ezo mu kintu eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. Kabona anaddiranga ennyonyi ennamu, omuti omwerezi, olugoye olumyufu ne ezobu, byonna n'abinyikira wamu mu kibya omuli omusaayi gw'ennyonyi ettiddwa; awo anaamansiranga ku oyo agenda okulongoosebwako ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'ateera ennyonyi ennamu mu bbanga mu ttale. N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu; oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye. Ku lunaku olw'omusanvu, nate anaamwangako enviiri ze zonna, n'ebirevu n'ebisige, era anaayozanga engoye ze n'anaaba omubiri, n'alyoka abeera omulongoofu.” “Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogw'omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya kimu eky'amafuta. Ne kabona amulongoosa, anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Awo kabona anaddirangako ogumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya eky'amafuta, n'abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; awo anattiranga omwana gw'endiga omulume mu kifo ekitukuvu mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kityo; kitukuvu nnyo. Awo kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, n'agusiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekya ddyo. Ate kabona anaddiranga ku mafuta ag'omukibya n'agafuka mu kibatu ky'omukono gwe ogwa kkono, awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'agamansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama. Anaatoolanga ku mafuta agasigaddewo mu kibatu kye, ne ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'abisiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, okw'oyo agenda okulongoosebwa. N'amafuta agasigaddewo mu kibatu kya kabona, anaagasiiganga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, n'amutangirira mu maaso ga Mukama. Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe, oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto. Bw'atyo Kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.” “Naye bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta; ne bukaamukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okubifuna; ejjiba erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa. Ne ku lunaku olw'omunaana anaagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso ga Mukama. Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa. Awo kabona anattanga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'agusiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja, ebyoyo agenda okulongoosebwa. Awo kabona anaafukanga amafuta mu kibatu eky'omukono gwe ogwa kkono; n'amansira n'olunwe lwe olwa ddyo ku mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono emirundi musanvu mu maaso ga Mukama; kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe, n'agasiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ku kinkumu eky'okumukono gwe ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, eby'oyo agenda okulongoosebwa. N'amafuta agasigaddewo mu kibatu kya kabona, anaagasiiganga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, n'amutangirira mu maaso ga Mukama. Anaawangayo akamu ku bukaamukuukulu oba erimu ku mayiba amato nga bw'anaabanga asobodde okufuna; Ejjiba erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama. Eryo lye tteeka ly'omugenge omwavu.” Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Bwe mutuukanga mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba zammwe; awo nannyini nnyumba anajjanga n'abuulira kabona nti, ‘Ennyumba yange enfaananira okubaamu endwadde y'ebigenge.’ Kabona nga tannaba kuyingira kulaba nnyumba, anaalagiranga okuggyamu ebintu byonna ebiri mu nnyumba, bireme okufuuka ebitali birongoofu; awo oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba. Kabona bw'anaalabanga ng'ebisenge birimu enjatika munda, oba amabala agakiragalalagala oba amamyufumyufu, nga gasensedde munda mu kisenge, awo kabona n'alyoka afuluma okuggalawo ennyumba okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw'omusanvu n'ayongera okukebera endwadde; era bw'eneebanga ebunye ku bisenge by'ennyumba; kabona anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ebweru w'ekibuga; era anaalagiranga ennyumba okugikolokota munda enjuyi zonna, era banaafukanga ennoni gye bakolokose ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu; ne baddira amayinja amalala, ne bagazza mu kifo kya gali ge baggyeemu, n'ennoni endala ne bagisiiga ku bisenge bye nnyumba.” “Naye endwadde bw'eneekomangawo n'esaasaana mu nnyumba emaze okuggyibwamu amayinja n'okukolokotebwako ennoni, era n'okusiigibwako endala; kale kabona anaayingiranga n'akebera, bw'anaakizuulanga ng'endwadde ebunye ennyumba eyo; ebyo nga bye bigenge ebizibu ennyo, ng'ennyumba eyo si nnongoofu. Awo kabona anaayabyanga ennyumba yonna, amayinja gaayo, emiti, n'ennoni; byonna anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu. Naye buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera ky'eneebanga nga nzigale, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era buli anaasulanga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze; n'oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze.” “Ennyumba bw'eneemalanga okusiigibwako ennoni, kabona n'ayingira n'akebera, n'alaba ng'endwadde tebunye ku nnyumba, kale anaalangiriranga ennyumba eyo nga nnongoofu, olwo ng'endwadde ewonye. Awo anaatwalanga ennyonyi bbiri, omuti omwerezi, olugoye olumyufu, n'ezobu olw'okulongoosa ennyumba. Awo anattanga emu ku nnyonyi mu kintu eky'ebbumba omuli amazzi agagiddwa mu nsulo ekulukuta. N'addira omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu, n'ennyonyi ennamu, byonna n'abinnyikira wamu mu kibya omuli omusaayi gw'ennyonyi ettiddwa; n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu. Era anaalongoosanga ennyumba n'omusaayi gw'ennyonyi, n'amazzi agavudde mu nsulo ekulukuta, n'ennyonyi ennamu, n'omuti omwerezi, n'ezobu n'olugoye olumyufu; naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu bbanga mu ttale, okuva mu kibuga; bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba n'eba ennongoofu.” Eryo lye tteeka erikwata ku ndwadde ey'ebigenge: eby'ekikakampa, eby'okukyambalo, n'eby'omunnyumba; era ery'ekizimba n'okubutuka n'ery'embalabe erungudde, okwawulanga ekitali kirongoofu, n'ekirongoofu; eryo lye tteeka ly'ebigenge. Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Mugambe abaana ba Isiraeri nti omusajja yenna bw'anaabanga n'enziku, nga si mulongoofu olw'enziku ye. Obutali bulongoofu bwe bunaabanga ng'atonnya oba ng'azibikidde olw'enziku ye. Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako era na buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; awandiddwako amalusu anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu. Na buli anaakomanga ku kintu omuziku ky'abadde atuddeko anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Na buli muziku gw'anaakomagako nga tanaabye ngalo, oyo akomeddwako anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ekintu eky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga; na buli kintu ky'omuti ky'anaakomangako kinaayozebwanga mu mazzi.” “Era omuziku yenna bw'anaawonanga, aneebaliranga ennaku musanvu okwetukuza; anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta n'alyoka aba omulongoofu. Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, n'ajja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona. Kabona anaagawangayo; erimu olw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'enziku ye. “Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Na buli kyambalo oba ddiba erinatonyebwangako amazzi ago kinaayozebwanga ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi. Era omusajja n'omukazi bwe banaamalanga okwegatta bananaabanga n'amazzi ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi. “Omukazi bw'anaabeeranga mu biseera eby'empisa ey'abakazi anaamalanga ennaku musanvu nga yeeyawudde, na buli anaamukomangako anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Na buli kintu ky'anaasulangako ne ky'anaatuulangako mu biro by'okweyawula kwe, binaabanga ebitali birongoofu. Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu kyonna ekirala ky'atuddeko, oyo akikomyeko anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Omusajja yenna bw'aneegattanga naye anaabeeranga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako nakyo kinaabeeranga ekitali kirongoofu. “Omukazi bw'anaavangamu omusaayi ennaku ennyingi nga tali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, oba ng'ayisizza mu biseera bye ebya bulijjo, anaasigalanga nga si mulongoofu ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi nga bw'aba mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi. Buli kitanda ky'anaasulangako oba buli ky'anaatuulangako mu nnaku ezo binaabanga ebitali birongoofu. Na buli anaakomanga ku ebyo, anaabanga atali mulongoofu, anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Omukazi bw'anavaanga mu biro eby'okweyawula kwe okw'embeera y'abakazi, aneebaliranga ennaku musanvu n'alyoka aba omulongoofu. Awo ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Kabona anaawangayo, erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'obutali bulongoofu bwe. “Bwe mutyo bwe munaalabulanga abaana ba Isiraeri ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu n'okwonoonyesa Eweema yange eri wakati mu bo.” Eryo ly'etteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amazzi g'obusajja, agamufuula atali mulongoofu; era ery'omukazi ali mu kweyawula okw'empisa y'abakazi, era n'eryoyo asula n'omukazi atali mulongoofu. Mukama n'ayogera ne Musa, nga babiri ku batabani ba Alooni bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa. N'amugamba nti, “Gamba Alooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde mu watukuvu, munda w'eggigi, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku ssanduuko aleme kufa; kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira. Alooni anaajjanga na bino mu watukuvu: ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa. Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkuffiira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala Ekibiina ky'abaana ba Isiraeri kinaaleetanga embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ne Alooni anaaleetanga ente ennume eyiye ku bubwe, ey'ekiweebwayo olw'ekibi, okwetangirira ye n'ennyumba ye.” “Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye. Awo anaaddiranga embuzi zombi n'azireeta mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Anaazikubiranga obululu. Akalulu akamu ka Mukama n'ak'okubiri ka Azazeri. Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi. N'embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneeretebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu okumutangirira era eneesindiikirizibwanga eri Azazeri mu ddungu.” “Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, n'agitta ne yeetangirira ye n'ennyumba ye. Awo anaaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa obulungi ennyo n'abireeta munda w'eggigi. Anaateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka gwabwo gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa aleme okufa. Awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ku ludda olw'ebuvanjuba; era n'agumansira n'engalo ye mu maaso g'entebe ey'okusaasira emirundi musanvu. Awo anaattanga embuzi ey'abantu ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi n'akola nga bwakoze ku musaayi gw'ente ennume, ng'agumansira ku ntebe ey'okusaasira ne mu maaso gaayo, era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna; era bw'atyo bw'anaakolanga n'Eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu bo olw'obutali bulongoofu bwabwe. So temubenga muntu mu Weema ey'okusisinkanirangamu nga Alooni ayingidde mu watukuvu okutangirira, okutuusa lw'anaafulumanga ng'amaze okwetangirira ye, n'ennyumba ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri. Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira; n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna. N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri. Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu; awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agikwasa omuntu ateekeddwateekeddwa, n'agisindiikiriza mu ddungu. Embuzi eyo eneettikkanga obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu; kale embuzi anaagiteeranga eyo mu ddungu.” “Awo Alooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambulamu ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo; awo anaanaabanga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu. N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto. Omuntu oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira. Ente ennume n'embuzi ezagiddwako omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi okutangirira mu watukuvu, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo. N'omuntu oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.” “Era lino linaabanga etteeka gye muli emirembe gyonna. Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'omusanvu, muneebonerezanga, so temukolanga mulimu gwonna; enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe; kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga ebibi byammwe byonna okuba abalongoofu mu maaso ga Mukama. Olunaku olwo ye Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako gye muli, era muneebonerezanga; eryo lye tteeka ery'emirembe gyonna. Era kabona, anaafukibwangako amafuta, era anaayawulibwanga okuba kabona mu kifo kya kitaawe, anaatangiriranga ng'ayambadde ebyambalo ebitukuvu ebya bafuta; era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga Eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina. Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka.” Musa n'akola byonna, nga Mukama bwe yamulagira. Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera ne Alooni ne batabani be, n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti, Ekigambo kino Mukama ky'alagidde: Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira, n'atagireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekiweebwayo eri Mukama, mu maaso g'ennyumba ya Mukama; anaavunaanibwanga omusango gw'okuyiwa omusaayi, era anaaboolebwanga mu bantu be. Abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe ze babadde baweerayo mu ttale mu bbanga, bazireetenga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama. Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama. Abaisiraeri balemenga okwongera okuba abatali beesigwa eri Mukama nga bawaayo ssaddaaka zaabwe eri ba katonda abali mu kifaananyi ky'embuzi ennume. Eryo linaabanga tteeka gyebali ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.” “Era onoobagamba nti, Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bannamawanga atuula mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, n'atakireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaaboolebwanga mu bantu be.” “Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku munnaggwanga atuula mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; n'ateekanga amaaso gange ku ye, era ne muboola okuva mu bantu be. Kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri buba mu musaayi, era ngubawadde okutangiriranga obulamu bwammwe ku kyoto; kubanga omusaayi gwe gutangirira obulamu. Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti, Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, newakubadde mu nnaggwanga anaatuulanga mu mmwe.” “Omuisiraeri yenna, oba munnaggwanga abeera mu Baisiraeri, anaayigganga ensolo, oba ekinyonyi ekikkirizibwa okuliibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo, n'agubikkako enfuufu. Kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi gwakyo; kye nnava ŋŋamba aba Isiraeri nti, Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna, kubanga obulamu bw'ekirina omubiri kyonna buli mu musaayi gwakyo. Buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.” “Buli muntu, oba nzaalwa oba munnaggwanga anaalyanga ku nsolo efa yokka oba etaaguddwa ensolo, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi, n'alyoka aba mulongoofu. Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukirivu bwe.” Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe. Temukolanga ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri gye mwatuulangamu, newakubadde eby'omu nsi ey'omu Kanani gye mbatwalamu, so temutambuliranga mu mpisa zaabwe. Munaakwatanga ebiragiro byange, n'amateeka gange ge munaatambulirangamu. Nze Mukama Katonda wammwe. Kale mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu: Nze Mukama.” “Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okwegatta naye. Nze Mukama. Toswazanga kitaawo nga wegatta ne nnyoko. Nnyoko teweegattanga naye. Teweegattanga na musika wa nnyoko okuswaza kitaawo. Teweegattanga na mwannyoko azaalibwa kitaawo oba azaalibwa nnyoko, abeere nga yazaalibwa waka oba walala. Teweegattanga na muzzukulu wo oba wa mulenzi oba wa muwala. Teweegattanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe. Oyo mwannyoko, teweegattanga naye. Teweegattanga na senga wo, kubanga oyo mwannyina kitaawo. Teweegattanga na muganda wa nnyoko, kubanga oyo naye nnyoko. Teweegattanga na mukazi wa kitaawo omuto. Oyo naye nnyoko. Teweegattanga na muka mwana wo. Teweegattanga na muka muganda wo. Teweegattanga na mukazi ate ne wegatta ne muwala we, so era teweegattanga na muzzukulu we, oba wa mulenzi oba wa muwala; ekyo kibi. Teweegattanga na mukazi wamu ne mugandawe, okuba muggyawe, nga mukazi wo akyali mulamu. Teweegattanga na mukazi ali mu mbeera z'abakazi ez'okweyawula kwabwe. Teweegattanga na muka muliraanwa wo. Towangayo ku zzadde lyo okuba ssaddaaka ey'omuliro eri Moleki, okuvumaganyisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama. Teweegattanga na musajja nga bwe begatta n'abakazi, ekyo kya muzizo. Omusajja oba omukazi, teyegattanga na nsolo yonna; obwo bugwagwa.” “Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna; kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe; n'ensi eyonoonese; kyenva mbagaanira ddala, ne mbazikiririza ddala okuva mu nsi. Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange, so temukolanga bya mizizo ebyo byonna; enzaalwa oba munnaggwanga atuula mu mmwe. Abasajja abaasooka mu nsi baakola eby'emizizo ebyo byonna ensi n'eyonooneka; nammwe nneme okubagaana, n'okubazikiririza ddala nga bwe nnakola eggwanga ery'abasooka. Omuntu yenna bw'anaakolanga ku by'emizizo ebyo, anaaboolebwanga mu bantu be. Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga mpisa yonna ku ezo ez'omuzizo ezakolebwanga abaabasooka. Nze Mukama Katonda wammwe.” Mukama n'ayogera ne Musa nti, “Yogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Munaabanga batukuvu; kubanga Nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu. Buli muntu assengamu ekitiibwa kitaawe ne nnyina; Nze Mukama Katonda wammwe. Temunvangako ne musinza ebifaananyi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: Nze Mukama Katonda wammwe.” “Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe. Munaagiriiranga ku lunaku olwo lwe mugiweereddeko n'oluddirira, era bw'efikkangawo okutuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga n'omuliro. Etuusizza olunaku olwokusatu, teribwangako n'akatono; yamuzizo. Buli anaakiryangako anaabanga atali mutuukirivu, kubanga ayonoonye ekintu ekitukuvu ekya Mukama era anaazikirizibwanga okuva mu bantu be.” “Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temubimalirangamu ddala byonna mu nnimiro zammwe, so temuddangayo kulonderera ebiba bisigaddemu; so temumalirangamu ddala bibala bya mizabbibu, so temuddengayo kulonderera bibala biba bikunkumuse; on'obirekeranga omwavu ne munnaggwanga: Nze Mukama Katonda wammwe.” “Temubbanga; so temulyazaamaanyanga, so temulimbagananga mwekka na mwekka. So temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa ne muvumisa erinnya lya Katonda wammwe: Nze Mukama. Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga; empeera y'omukozi tosulanga nayo okukeesa obudde. Tokolimiranga muggavu wa matu, so toteerangawo muzibe w'amaaso nkonge okugyesittalako, naye onootyanga Katonda wo: Nze Mukama. Musalenga emisango mu mazima n'obwenkanya, tosalirizanga mwavu olw'omugagga ali naawe, ne muliraanwawo onoomusaliranga omusango mu mazima. Tobanga wa lugambo mu bantu bo, so tewekobanaanga kukola kabi ku muliraanwa wo: Nze Mukama.” “Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo, tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe. Towalananga ggwanga, so tobanga na kiruyi eri mulirwanaawo, naye onoomwagalanga nga bwe weeyagala wekka: Nze Mukama.” “Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisanga nsolo zo nga si za ngeri emu. Tosiganga mu nnimiro yo nsigo ezitali za ngeri emu. Toyambalanga kyambalo kya ngeri bbiri ezitafaanagana.” “Buli anaasulanga n'omuzaana ayogerezebwa omusajja omulala, era nga tanunulwanga, so nga taweebwanga ddembe, bombi banaabonerezebwanga, naye tebattibwenga, kubanga omuzaana yali tanunulwanga. Awo omusajja oyo anaaleetanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, endiga ennume, okuba ekiweebwayo eri Mukama olw'omusango. Awo kabona anaamutangirizanga endiga eyo ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; era anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola.” “Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egy'ebibala ebiriibwa, ebibala ebyo temubiryangako okumala emyaka esatu kubanga biriba si birongoofu gye muli. Naye mu mwaka ogwokuna ebibala ebyo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama. Naye mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala ebyo. Bwe mulituukiriza ebyo byonna mulifuna ekyengera: Nze Mukama Katonda wammwe.” “Temulyanga nnyama yonna ng'ekyalimu omusaayi, so temuloganga era temulagulanga. Temumwanga nkiiya, so temukomolanga birevu byammwe. Temwesalanga misale ku mibiri gyammwe olw'abafu, wadde okweyolako enjola olw'okwewoomya: Nze Mukama.” “Temwonoonanga bawala bammwe nga mu bawaayo mu bwenzi, ensi ereme okwonooneka olw'obwenzi, n'ejjula ebibi. Mwekuumenga Ssabbiiti zange, era mussengamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu: Nze Mukama.” “Temugendanga eri abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga muleme okwonooneka: Nze Mukama Katonda wammwe.” “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: Nze Mukama.” “Era munnaggwanga bw'anaatuulanga nammwe mu nsi yammwe, temumukolanga bubi. Munnaggwanga anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era munaamwagalanga nga bwe mweeyagala mwekka, kubanga nammwe mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.” “Temusalirizanga so temukumpanyanga nga mukozesa ebipimo ebitali bituufu mu kupima obuwanvu, obuzito n'obungi bw'ebintu. Munaabanga ne minzaani entuufu, n'ebigera ebituufu, efa entuufu, ne ini entuufu: Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Era mukwatenga amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna mubituukirizenga: Nze Mukama.” Mukama n'agamba Musa nti, “Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna mu Baisiraeri, oba mu bannamawanga abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, anattibwanga abantu bonna nga bamukuba amayinja. Era nange naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu bange; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, naayonoonyesa awatukuvu wange, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu. Naye abantu ab'omu nsi bwe bataafengayo ku kibi ky'omuntu oyo awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki ne batamutta, Nze, nze nnyini naamusunguwaliranga, ye n'ab'omu nnyumba ye, ne bonna abamwegattako okusinza Moleki ne mbaboola okuva mu bantu bange.” “Omuntu yenna bw'anaanvangako n'agenda eri abasamize n'abalogo, naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu be. Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu; kubanga nze Mukama Katonda wammwe. Era mwekuumenga amateeka gange, mugakwatenga; Nze Mukama abatukuza. Buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina anattibwanga, anaabanga yeeleetedde yekka okuttibwa. Omusajja bw'anaayendanga ku muk'omusajja, abenzi bombi, omusajja n'omukazi, banattibwanga. Omusajja yenna aneegattanga ne muka kitaawe, anaabanga akoze ekivve, era abantu abo bombi banattibwanga, be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa. Omusajja bw'aneegattanga ne muka mwana we, nga bakoze ekivve, bombi banattibwa; be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa. Omusajja bw'aneegattanga ne musajja munne, nga bwe yandyegasse n'omukazi, nga bakoze eky'omuzizo; banattibwanga, be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa. Omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kivve; bonsatule banaayokebwanga omuliro; temukkirizanga kibi ng'ekyo kubeera mu mmwe. Omusajja bw'aneegattanga n'ensolo, anattibwanga; n'ensolo nayo enettibwanga. Omukazi aneegattanga n'ensolo anattibwanga, n'ensolo nayo n'ettibwa, ye n'ensolo eyo bye binaabanga byereetedde byokka okuttibwa. Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba wa nnyina, banaabanga bakoze eky'obuwemu; banaabolebwanga okuva mu bantu baabwe, era omusajja oyo eyeegatta ne mwannyina anaavunaanibwanga olw'ekibi ekyo. Omusajja bw'aneegattanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaabolebwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu. Teweegattanga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe. Omusajja bw'aneegattanga ne muka kitaawe omuto oba muka kojjaawe, nga bakoze ekivve, era ye n'omukazi oyo banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe, era balifa nga bagumba. Omusajja bw'aneegattanga ne muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we, era baliba bagumba.” “Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna ne mubituukirizanga; ensi gye mbatwala okubeeramu ereme okubagaana. Temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe; kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyennava mbakyawa. Naye mmwe n'abagamba nti, ‘Mulisikira ensi yaabwe, ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga. Kale munaayawulanga ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi ennongoofu n'eteri nnongoofu. Temufuukanga batali balongoofu nga mulya ensolo, oba ennyonyi, oba ekintu kyonna ekyewalula ku nsi, bye nnabagaana. Munaabanga batukuvu gye ndi; kubanga nze Mukama ndi mutukuvu, era nnabaawula mu mawanga mubeere abange.” “Omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, banaakubibwanga amayinja ne bafa, be banaabanga bereeseeko bokka okuttibwa.” Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu yenna ku bo, eyeeyonoona ng'akoma ku w'oluganda lwe afudde; Okuggyako abo abamuli okumpi mu luganda: nnyina ne kitaawe, mutabani we ne muwala we, ne muganda we, oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye. Teyeeyonoonanga olw'abo abafudde ku buko. Tebeesalanga kiwalaata, wadde okukomola ekirevu, n'okwesala emisale ku mibiri gyabwe. Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe; kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe; kyebanaavanga babeera abatukuvu. Kabona tawasanga mukazi mwezi, oba eyagwagwawazibwa, oba eyagobebwa bba; kubanga kabona mutukuvu eri Katonda we. Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo; anaabanga mutukuvu gy'oli; kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu. Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe; anaayokebwanga omuliro.” “N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu, eyafukibwako amafuta, n'ayawulibwa okwambala ebyambalo by'obwa kabona, tasumululenga nviiri ze, so taayuzenga byambalo bye olw'okukungubaga. Taasembererenga mulambo gwonna, wadde ogwa kitaawe oba ogwa nnyina, so talekanga mirimu gy'awatukuvu olw'abafu, kubanga yafukibwako amafuta amatukuvu aga Katonda. Era anaawasanga omukazi atannamanya musajja. Tawasanga nnamwandu, oba eyagobebwa bba, oba eyagwagwawazibwa, oba omwenzi, wabula awasanga omuwala ow'omu bantu be, atannamanya musajja. So tavumisanga zzadde lye mu bantu be; kubanga nze ndi Mukama amutukuza.” Mukama n'agamba Musa nti, Gamba Alooni nti, “Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo ekiweebwayo eky'omugaati gwa Katonda we. Omuntu yenna anaabangako obulema: omuzibe w'amaaso, awenyera, eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekikyamu ku mubiri gwe, eyamenyeka okugulu, eyamenyeka omukono, ow'ebbango, omutuutuuli, aliko obulema ku liiso, alina obuwere, omubootongo, oba eyayatika enjagi; tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro n'ekiweebwayo eky'omugaati gwa Katonda. Ow'engeri eyo, anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu. Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.” Awo Musa n'agamba Alooni ne batabani be, ne Isiraeri yenna ebigambo ebyo. Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu abaana ba Isiraeri bye bawaayo gyendi; balemenga okuvumaganyisa erinnya lyange ettukuvu: Nze Mukama. Bagambe nti, Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nga si mulongoofu, anaaboolebwanga mu maaso gange: Nze Mukama. Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni alwadde ebigenge oba enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa ng'alongooseddwa. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu bw'anaakomanga ku kintu ekifudde, oba ku musajja avuddemu amaanyi ag'ekisajja; oba bw'anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba bw'anaakomanga ku muntu yenna atali mulongoofu; kabona oyo anaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mutukuvu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri gwe n'amazzi. Awo enjuba ng'egudde, anaabanga mulongoofu; oluvannyuma anaalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga ebyo y'emmere ye. Ennyama y'ensolo efudde yokka oba etaaguddwataaguddwa ensolo ey'omu nsiko, tagiryangako okufuuka atali mulongoofu: Nze Mukama. Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga okwonoona, ne bafa olw'okubinyoomoola: Nze Mukama abatukuza.” “Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu, wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako. Naye omuddu kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abazaaliddwa mu nnyumba ye, bo banaalyanga ku mmere ye. Era muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omusajja atali mu lulyo lwa bakabona, talyanga ku kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu ebitukuvu. Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe; naye atali mu lulyo lwa bakabona taagiryengako. Era omuntu atali mu lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, kale anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'agattako n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano. Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isiraeri, bye bawaayo eri Mukama; nga bakkiriza abatali mu lulyo lwa bakabona okubiryako, ne babaleetera omusango n'ekibonerezo: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.” Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera ne Alooni ne batabani be, n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti buli mu Isiraeri yenna, oba munnaggwanga ali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone kye eky'obweyamo oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama; anaawangayo, ente ennume, oba endiga, oba embuzi eteriiko mulema, alyoke akkirizibwe. Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo; kubanga tekikkirizibwenga. Buli anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukiriza obweyamo, oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde: ente oba embuzi, eneebanga eteriiko bulema eryoke ekkirizibwe. Enzibe y'amaaso, emmenyefu, ennema, eriko amabwa oba obuwere oba kabootongo, ezo temuziwangayo eri Mukama, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro ku kyoto. Ente oba endiga ento eriko ekintu kyonna ekikyamu ku bitundu byayo, eyo oyinza okugiwaayo ng'ekiweebwayo kye weeyagalidde, so ssi kugiwaayo ng'obweyamo. Eyabetentebwa, eyanyigibwa, eyayatika, oba eyasalibwako enjagi zaayo, eyo temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe. Ensolo ze muggye mu bannamawanga temuziwangayo eri Katonda wammwe ng'ekiweebwayo eky'okulya. Ezo zibalibwa ng'eziriko obulema era tezikkirizibwenga.” Mukama n'agamba Musa nti, “Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo eneekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Temuttanga ente oba endiga, n'omwana gwayo, byombi ku lunaku olumu. Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo nga mugoberera amateeka, mulyoke mukkirizibwe. Eneeriibwanga ku lunaku olwo; temugirekangawo okutuusa enkya: Nze Mukama.” “Muneekuumanga ebiragiro byange, ne mubituukiriza: Nze Mukama. So temuvumaganyanga linnya lyange ettukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri bonna: Nze Mukama abatukuza, eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuba Katonda wammwe: Nze Mukama.” Mukama n'agamba Musa nti, Embaga ennonde eza Mukama okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu ze zino. Ennaku omukaaga zinaakolerwangako emirimu; naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ey'okuwummula n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Olwo ye Ssabbiiti ya Mukama mu nnyumba zammwe zonna. “Zino ze mbaga ennonde eza Mukama, okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu, ze munaalangiranga mu ntuuko zaazo. Mu mwezi ogwolubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi, ye mbaga y'Okuyitako.” “Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ye mbaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa eri Mukama; munaagiriiranga ennaku musanvu. Ku lunaku olwolubereberye munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Naye ennaku musanvu munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna.” Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, muleetanga ekinywa eky'ebibereberye eri kabona; naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, kiryoke kikkirizibwe. Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema, ogutannaweza mwaka okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. N'ekiweebwayo kyakwo eky'obutta kinaabanga ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa, eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, okuba evvumbe eddungi; n'ekiweebwayo kyakwo eky'okunywa kinaabanga ekitundu kimu ekyokuna ekya ini eky'envinnyo. Temulyanga ku mugaati, wadde ku ŋaano ensiike, oba ey'ebirimba ebibisi, okutuusa nga mumaze okuleeta ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe; eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna, mu nnyumba zammwe zonna.” “Munaabalanga wiiki musanvu enzijuvu okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti gye muleteddeko ekinywa kyammwe eky'eŋŋaano okukiwaayo eri Mukama. Olunaku olw'ataano oluddirira Ssabbiiti ey'omusanvu munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama. Buli nnyumba eneereetanga emigaati ebiri egiwuubibwawuubibwa egy'ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa; ginaabanga gya butta bulungi, ginaayokebwanga n'ekizimbulukusa, okuba ebibereberye eri Mukama. Awamu n'emigaati egyo, munaaleetanga abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema, abatannaweza mwaka; ente ennume ento emu, n'endiga ennume bbiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Awamu n'ebyo munaaleeterangako ekiweebwayo kyakwo eky'obutta n'eby'okunywa byakwo. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ento ennume bbiri ezitannaweza mwaka, okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe. Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi; binaabanga bitukuvu eri Mukama era binaabanga bya kabona. Era ku lunaku olwo munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna, mu mirembe gyammwe gyonna.” “Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temubimalirangamu ddala byonna mu nnimiro zammwe, so temuddangayo kulonderera ebyo ebiba bisigaddemu; munaabirekeranga omwavu ne munnaggwanga: Nze Mukama Katonda wammwe.” Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, n'okukuŋŋaana okutukuvu okunaalangirirwanga n'okufuuwa amakkondeere. Temulukolerangako mulimu gwonna; era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.” Mukama n'agamba Musa nti, “Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, lwe lunaku olw'okutangiririrako; munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu ne mwebonereza nga musiiba; era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo; kubanga lwe lunaku olw'okubatangiririrako mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. Omuntu yenna ateebonerezenga ng'asiiba, ku lunaku olwo, anaaboolebwanga mu bantu be. Era buli muntu anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo; n'amuboolanga n'aggyibwa mu bantu be. Temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna, yonna gye munaabeeranga. Lunaabanga gye muli Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako, nammwe muneebonerezanga nga musiiba, okuva akawungeezi ku lunaku olw'omwenda okutuusa akawungeezi ku lunaku oluddirira, munaakuumanga Ssabbiiti yammwe.” Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira eri Mukama okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olwolubereberye ku zo wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna. Ku buli lumu ku nnaku ezo omusanvu, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; era ne ku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Kwe kukuŋŋaana okukulu; temulukolerangako mulimu gwonna.” “Ezo ze nnaku enkulu ez'embaga eza Mukama z'abalagidde. Munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu ne muwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, buli kimu ku lunaku lwakyo. Embaga ezo zeyongedde ku Ssabbiiti za Mukama eza bulijjo, era n'ebiweebwayo ebyo byeyongedde ku bya bulijjo bye muwaayo eri Mukama okutuukiriza obweyamo, n'ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.” “Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ennimiro zammwe, munaakuumanga embaga ya Mukama okumala ennaku musanvu. Ku lunnaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okw'okwewombeeka. Era ku lunaku olwolubereberye munaatwalanga ebibala by'emiti egisinga obulungi, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti ag'ebikoola ebiziyivu, n'emiti egy'oku migga; munaasanyukiranga ennaku musanvu, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. Buli mwaka, mu mwezi ogw'omusanvu munaakuumanga embaga ya Mukama eno, okumala ennaku musanvu. Lino lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna. Abaisiraeri bonna banaabeeranga mu nsiisira okumala ennaku musanvu, bazzukulu bammwe bonna balyoke bamanye nti bajjajjaabwe bwe baali bava mu nsi ey'e Misiri, nnababeezanga mu nsiisira: Nze Mukama Katonda wammwe.” Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri embaga Mukama ze yalagira. Mukama n'agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi agakenenuddwa mu muzeyituuni ag'okuteekanga mu ttaala, eyakenga bulijjo obutazikira. Buli kawungeezi, Alooni anaagirongoserezanga wabweru w'olutimbe oluli mu maaso g'essanduuko ey'Endagaano, mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'agikoleeza n'eyaka obutazikira okutuusa enkeera ng'eri mu maaso ga Mukama. Alooni anaalongoosanga ettaala eyo ng'eri ku kikondo kyayo ekya zaabu ennungi, eyakirenga mu maaso ga Mukama obutazikira.” “Onoddiranga obutta obuŋŋuntiddwa obulungi, n'obufumbamu emigaati kkumi n'ebiri (12), nga buli bitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa bivaamu omugaati gumu. Era onoogitegekanga ku mmeeza eya zaabu ennongoose, mu maaso ga Mukama mu mbu bbiri, buli lubu nga lulimu emigaati mukaaga. Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku buli lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Buli Ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri. Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu; kubanga mitukuvu nnyo gyali, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.” Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe nga Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri; mutabani w'omukazi Omuisiraeri ono n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira; mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'avvoola Erinnya lya Mukama n'akolima; ne bamuleetera Musa. Nnyina nga ayitibwa Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani. Ne bamusiba nga balinda Mukama okubategeeza eky'okumukolera. Mukama n'agamba Musa nti, “Oyo akolimye, mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja. Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti buli anaakolimiranga Katonda we, anaabangako ekibi kye. N'oyo anavvoolanga erinnya lya Mukama talemanga kuttibwa; ekibiina kyonna tekiremanga kumukuba mayinja; k'abe munnaggwanga oba nzaalwa, bw'anavvoolanga erinnya lya Mukama, anattibwanga. N'oyo anaakubanga omuntu yenna n'amutta talemanga kuttibwa; n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga; obulamu olw'obulamu. Era omuntu bw'anaalemazanga muliraanwa we; nga bw'akoze, bw'anaakolebwanga bw'atyo; ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo; nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo. N'oyo anattanga ensolo anaagiriwanga; n'oyo anattanga omuntu anattibwanga. Munaabanga n'etteeka limu eri munnaggwanga era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.” Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. Mukama n'agambira Musa ku lusozi Sinaayi nti “Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, mulissaamu Mukama ekitiibwa nga temulima nsi eyo buli mwaka ogw'omusanvu. Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliranga emyaka mukaaga, era n'okungula ebibala byalwo; naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako eri ensi, Ssabbiiti eri Mukama; tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo. Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga; gunaabanga mwaka gwa kuleka ttaka liwummule. Era Ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe; n'eri ebisibo byo n'ensolo eziri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonna kinaabanga kya kulya.” “Era oneebaliranga Ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza Ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda (49). Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu; ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna. Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano (50), ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze. Omwaka ogwo ogw'ataano (50) gunaabanga jjubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire. Kubanga jjubiri; gunaabanga mutukuvu gye muli: munaalyanga ekyengera kyagwo nga mukiggya mu nnimiro.” “Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buli muntu mu butaka bwe. Kale bwemubanga muguza Baisiraeri bannammwe ettaka, oba nga mulibagulako temulyazaamanyagananga. Omuwendo gunaagerekebwanga okusinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo okulirimirako nga terinnaddizibwa nannyini lyo. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emingi, omuwendo gunaabanga munene. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emitono, n'omuwendo gunaabanga mutono, kubanga omuwendo gunaasinziiranga ku makungula agasigaddeyo ng'ettaka terinnaddizibwa nnannyini lyo. So temulyazaamaanyagananga; naye mutyenga Katonda wammwe; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.” “Bwemunaawuliranga amateeka gange ne mugagondera munaabanga n'emirembe mu nsi. Ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga ne mukkuta, ne mugituulamu mirembe. Era muyinza okwebuuza nti, ‘Mu mwaka ogw'omusanvu tulirya ki nga tetusize so nga tetukungudde?’ Ndibawa omukisa mu mwaka ogw'omukaaga, ensi n'ebaza emmere eribamala mu myaka gyonsatule. Bwe munaasiganga mu mwaka ogw'omunaana, munaabanga mukyalya ku bye mwakungula edda, era munaabanga mukyalina emmere ebamala okutuusa amakungula ag'omwaka ogw'omwenda lwe gunaatuukanga. Ettaka teritundibwanga okulyeggyirako ddala olubeerera kubanga lyange, kubanga mmwe muli bagenyi era abayise be nnasenza. Bwe munaatundanga ettaka ery'obutaka bwammwe, munakkirizanga nannyiniryo eyasooka okulinunula.” “Muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, n'atunda ku butaka bwe, kale muganda we asinga okumuba okumpi mu luganda anajjanga, n'anunula ekyo muganda we ky'atunze. Atalina ayinza kulinunula, bw'agaggawalanga n'afuna ebimala okulinunula, anaabalanga emyaka gy'amaze ng'alitunze, n'asasula eyaligula ekyo ekigya mu myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, n'alyoka alyeddiza. Bw'anaabanga tasobola kulyeddiza, linaasigalanga mu mikono gy'oyo eyaligula, okutuusa mu mwaka ogwa jjubiri; olwo ne liryoka liteebwa mu mwaka ogwa jjubiri ne liddira nannyiniryo.” “Era omuntu bw'anaatundanga ennyumba ye gy'abeeramu ng'eri mu kibuga ekiriko bbugwe, anaayinzanga okuginunula ng'omwaka omulamba tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okuginunula. Era bw'eteenunulibwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eyo eri mu kibuga ekiriko bbugwe, eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula ennaku zonna, teddizibwanga nnannyiniyo mu mwaka ogwa jjubiri. Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalibwanga bumu n'ennimiro ez'omu byalo; zinaayinzanga okununulibwa, ne ziddira bannannyinizo mu mwaka ogwa jjubiri. Naye ennyumba ez'Abaleevi eziri mu bibuga eby'obutaka bwabwe, banaayinzanga okuzinunula ebbanga lyonna. Omuleevi bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu bibuga ebyo, eneemuddizibwanga mu mwaka ogwa jjubiri, kubanga amayumba Abaleevi ge balina mu bibuga byabwe, bwe butaka bwabwe ennaku zonna mu Baisiraeri. Naye ettaka erirundirwako eririraanye ebibuga byabwe, teriitundibwenga kubanga obwo bwe butaka bwabwe ennaku zonna.” “Muisiraeri munno bw'ayavuwalanga nga tasobola kweyimirizaawo, omuyambanga n'abeera naawe ng'omunoonyi w'obubudamo era omutuuze ow'ekiseera. Tomuggyangako magoba; naye otyanga Katonda wo, muganda wo alyoke abeerenga naawe. Toomusabenga magoba ku nsimbi z'omuwola, wadde okumusasuza emmere gy'omuwa okulya. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ya Kanani, era okuba Katonda wammwe.” “Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde ddala, nga takyesobola, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga; anaabeeranga naawe ng'omukozi ow'empeera era ng'omutambuze akolera empeera era; anaakuweerezanga okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be, n'adda mu butaka bwa kitaawe. Kubanga Abaisiraeri baddu bange, be n'aggya mu nsi y'e Misiri; temutundibwanga kuba baddu. Tomufuganga lwa maanyi; naye otyanga Katonda wo. Munaagulanga abaddu n'abazaana okuva mu mawanga agabeetoolodde. Era ne ku baana ba bannamawanga abatuula mu mmwe oba ku ŋŋanda zaabwe, oba be baazaalira mu nsi yammwe; nabo banaabanga nvuma zammwe. Era banaabanga nvuma eri abaana bammwe abanaabaddiriranga; ku abo kwe munaggyanga abaddu ennaku zonna; naye baganda bammwe, abaana ba Isiraeri temubafuulanga baddu.” “Era munnaggwanga oba omutambuze bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde ddala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba omutambuze ali naawe, oba eri ow'olulyo lwabwe, bw'anaamalanga okutundibwa anaayinzanga okununulibwa omu ku baganda be; akyayinza okuba kojja we, oba omuntu yenna amuli okumpi mu luganda, oba bw'aba nga agaggawadde anaayinzanga okwenunula yekka. Anaateesanga n'oyo eyamugula, ne babalirira emyaka okuva mu kiseera kye yeetundiramu, okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, era omuwendo gw'anaamusasulanga gunaabanga ng'ogw'omukozi ow'empeera bwe guba, ogw'ebbanga eryo. Ekiseera ekisigaddeyo bwe kinaabanga ekinene anaamuddizanga ku muwendo gwe yamugula. Emyaka bwe ginaabanga emitono okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, anaamusasulanga omuwendo ogubalirirwa mu myaka egyo egisigaddeyo. Anaabanga naye ng'omukozi ow'empeera buli mwaka, naye tamufuulanga muddu. Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaanunulibwanga mu mwaka gwa jjubiri n'abaana be. Kubanga muli baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.” “Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde ejjinja eriri mu butonde bwalyo, newakubadde ejjinja eryole okubivuunamiranga; kubanga nze Mukama Katonda wammwe. Mwekuumanga Ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: Nze Mukama. “Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola; kale naabawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta. Nabawanga emirembe mu nsi, era muneebakanga nga tewali abatiisa, era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so tewaabenga ntalo mu nsi yammwe. Bwemunaalumbibwanga abalabe munaabattanga n'ekitala. Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga omutwalo; n'abalabe bammwe munaabattanga n'ekitala. Era naabassangako omwoyo, ne muzaala, ne mwala; era naanywezanga endagaano yange nammwe. Era munaalyanga ku bye mwakungula edda bye mwatereka, era munaafulumyanga ebyo ebinaabanga bikyasigaddewo olw'okuyingiza ebiggya. Era nnaabeeranga mu mmwe; so siibakyawenga. Era nnaabeereranga ddala mu mmwe, ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey'e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era nnagyawo ebisiba eby'ekigoligo kyammwe, ne mbatambuza nga muli ba ddembe.” “Naye bwe mutampulirenga, ne mutakola biragiro bino byonna; era bwe munaagaananga amateeka gange, ne mukyawa ebiragiro byange byonna era ne muleka endagaano yange; nange nnaabakolanga bwe nti: nnaalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, omusujja n'endwadde ezitawonyezeka biribaziba amaaso nezikoozimbya obulamu bwammwe. Munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga. Era nnaabavangako, nammwe munaawangulwanga abalabe bammwe, ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali abagoba.” “Ebyo byonna bwe binaamalanga okubaawo, era ne mutampulira, ekibonerezo kyammwe nnaakyongerangako emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. Era nnaggyangawo amalala n'okwegulumiza kwammwe, era nnaalagiranga enkuba obutatonnya ku ttaka lyammwe, ne lifuuka olukalajje. Amaanyi gammwe ganaagenderanga busa; kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo. Era bwe munaayongeranga okutambulira mu bukakanyavu bwammwe ne mutampulira, ndyongera emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga. Era naabasindikiranga ensolo ez'omu nsiko, ezinaabanyagangako abaana bammwe, era ezinaazikirizanga ebisibo byammwe, era ezinaabakendeezanga; n'amakubo gammwe ganaazikanga.” “Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gye ndi, ne mweyongera okubeera abakakanyavu gye ndi, nange nnaabeeranga mukakanyavu gye muli era nze mwene, nnaabakubanga emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. Nnaabaleeteranga entalo okubonereza eggwanga lyammwe lye nnakola nalyo endagaano. Era bwe muneekuŋŋaanyizanga awamu mu bibuga byammwe okwetaasa, nnaabasindikangamu kawumpuli, era munaawangulwanga abalabe bammwe. Bwe nnaaleetanga enjala mu mmwe, abakazi ekkumi (10) baneetaaganga ekyoto kimu okufumbirako emmere. Banagipimanga, ne mugirya yonna, naye ne mutakutta.” “Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gyendi, ne mweyongera okubeera abakakanyavu gyendi; nange n'abeeranga mukakanyavu gye muli; era nnaababonerezanga n'ekiruyi emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. Munaalumwanga nnyo enjala, ne mutuuka n'okulyanga abaana bammwe. Era nnaazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu, ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba bye musinza, n'emirambo gyammwe ginaagwanga ku bifaananyi byammwe, era n'obulamu bwange bunaabakyawanga. Naazisanga ebibuga byammwe, era nnaafuulanga ebifo byammwe bye musinzizaamu okuba amalungu; siisanyukirenga kaloosa ak'ebiweebwayo byammwe. Era nnaafuulanga ensi yammwe eddungu; n'abalabe bammwe abalijja okugibeeramu banaagyewuunyanga. Nammwe nnaabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera; n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga. Awo ensi n'eryokanga esanyukira ennaku zaayo ez'okuwummuza ettaka, naye nga mmwe muwaŋŋangukidde mu nsi ey'abalabe bammwe. Ensi eneezikanga n'eba n'okuwummula kw'etandibadde nakwo nga mukyagirimu. N'abo abanaasigalangawo ku mmwe, banaakeŋŋentererwanga mu mitima, era n'akakoola akagwa kanaabaddusanga. Banaddukanga ng'omuntu bw'adduka olutalo, era banaagwanga nga tewali abagoba. Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka olutalo, nga tewali abagoba; so tebaabenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe. Era munaafiiranga mu mawanga, n'ensi y'abalabe bammwe eneebalyanga. N'abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakenenanga mu nsi y'abalabe baabwe olw'obutali butuukirivu bwabwe n'obwa bajjajjaabwe.” “Naye bwe banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe bwe bansobyako nga tebatambula nange; ekyandeetera okubaleka okuwangulwa abalabe baabwe; naye bwe baneetoowazanga mu mitima gyabwe, ne bategeere okusobya kwabwe okw'obutali butuukirivu bwabwe, awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo ne Isaaka, ne Ibulayimu; era najjukiranga ensi yaabwe. Era ensi eneewummulanga n'ezika olw'okubonerezebwa okw'obutali butuukirivu bwabwe, olw'okugaana okukwata ebiragiro byange n'amateeka gange. Newakubadde ebyo binaabanga bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi y'abalabe baabwe siibaviirengako ddala, siibakyawenga era siibazikiririzenga ddala, olw'endagaano yange gye nnalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe. Ku lwabwe, najjukiranga endagaano gye nnalagaana ne bajjajjaabwe, be najja mu nsi ey'e Misiri mu maaso g'amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: Nze Mukama.” Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yassaawo wakati we n'abaana ba Isiraeri, ku lusozi Sinaayi ng'ayita mu Musa. Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Omuntu bw'aneeyamanga okuwonga abantu eri Mukama anaasobolanga okutuukiriza obweyamo obwo ng'awaayo emiwendo gy'ensimbi gino: Omusajja ow'emyaka abiri (20) okutuusa ku myaka nkaaga (60), omuwendo gw'anaawangayo gunaabanga sekeri za ffeeza ataano (50), nga sekeri y'omuwatukuvu bw'eri. Bw'anaabanga omuwala omuwendo gunaabanga sekeri asatu (30). Bw'anaabanga omulenzi ow'emyaka etaano okutuuka ku ataano, omuwendo gunaabanga sekeri abiri (20), n'omuwala sekeri kkumi (10). Omulenzi ow'omwezi ogumu okutuuka ku myaka etaano, omuwendo gunaabanga sekeri za feeza ttaano n'omuwala sekeri za feeza ssatu. Omuwendo gw'omusajja asussa emyaka enkaaga (60), gunaabanga sekeri kkumi na ttaano (15), n'ogw'omukazi sekeri kkumi (10). Kyokka oyo eyeeyama bw'anaabanga omwavu, nga tasobola kusasulira muwendo gwa muntu oyo, omuntu gwe yeeyama okuwaayo anaamuleetanga mu maaso ga kabona, n'amusalira omuwendo, ng'asinziira ku ekyo oyo awaayo ky'asobola okusasula.” “Obweyamo bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo ekkirizibwa okuba ekirabo eri Mukama, olwo ebirabo byonna buli muntu by'anaawangayo eri Mukama, binaabanga bitukuvu. Taakyusenga kuteekawo ndala, wadde okuwaanyisaamu ennungi mu kifo ky'embi, oba embi mu kifo ky'ennungi. Bw'anaawaanyisangamu emu okuteekawo endala, olwo ensolo zombi zinaabanga za Mukama. Era bw'eneebanga ensolo yonna eteri nnongoofu, gye batawaayo okuba ekirabo eri Mukama, anaagireetanga mu maaso ga kabona; kale kabona anaagikeberanga oba nga nnungi oba nga mbi, era omuwendo gw'anaalamulanga bwe gunaabanga bwe gutyo. Naye bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kyayo ekyokutaano ku muwendo ogwagisalirwa.” “Omuntu bw'anaawangayo ennyumba ye okuba eya Mukama, kabona anaagikeberanga oba nga nnungi oba nga mbi, era omuwendo gw'anaalamulanga bwe gunaabanga bwe gutyo. Era oyo eyagitukuza bw'anaayagalanga okununula ennyumba ye, kale anaagattangako ekitundu ekyokutaano eky'ebintu by'olamudde n'eba yiye.” “Omuntu bw'anaawangayo ekitundu ky'ettaka lye okuba erya Mukama, kale omuwendo gwalyo gunaabalwanga okusinziira ku bungi bw'ensigo ezigendawo. Ennimiro esigibwamu komeri ya sayiri, omuwendo gwayo gunaabanga sekeri eza feeza ataano (50). Bw'anaawangayo ennimiro ye oluvannyuma lw'omwaka gwa jjubiri, enaabanga ku muwendo gwonna ogugiramuliddwa. Bw'anaagiwangayo ng'omwaka ogwa jjubiri guweddeko, kabona anaagibaliriranga omuwendo gwayo okusinziira ku myaka egisigaddeyo okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, n'alyoka akendeeza ku muwendo gwayo. Oyo eyagiwaayo eri Mukama bw'anaayagalanga okuginunula, anaagattangako ekitundu ekyokutaano eky'omuwendo ogwagisalirwa. Bw'ataayagalenga kuginunula, oba bw'anaagiguzanga omuntu omulala nga tannaginunula, eneebanga tekyayinza kununulibwa. Naye ennimiro bw'eneetuusanga jjubiri nga tenunuddwa eneebanga ya Mukama, era kabona anaagitwalanga.” “Omuntu bw'anaawangayo ennimiro eri Mukama gye yagula obuguzi, nga si ya butaka bwe, kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, okusinziira ku myaka egisigaddeyo okutuuka ku jjubiri, era agiwaddeyo anaasasulanga omuwendo ogwo okuba ogwa Mukama. Mu mwaka gwa jjubiri ennimiro eneddanga eri oyo eyagitunda, ye nannyini butaka obw'ennimiro.” “Okulamula kwonna kunaabanga ng'omuwendo gwa sekeri ogw'omuwatukuvu bwe guli. Gera abiri (20) zinaabanga sekeri emu.” “Ensolo en'eggulanga enda oba nte oba ndiga, eba ya Mukama; teweebwangayo nga kiweebwayo. Era bw'eneebanga ensolo eteri nnongoofu, kabona anaagiramulanga nga bw'alaba, era eneenunulwanga nga egattibwako ekitundu ekyokutaano eky'omuwendo ogwagisalirwa. Bw'eteenunulibwenga, eneetundibwanga ng'omuwendo gwayo bwe guli.” “Ku ebyo byonna omuntu bye yeeyama okuwaayo eri Mukama, oba muntu, oba nsolo, oba nnimiro, tebitwalibwanga era tebitundibwanga era tebinunulwanga; bya Mukama. Ne bw'abeeranga muntu eyawongebwa eri Mukama, tanunulibwanga, wabula attibwenga buttibwa.” “Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ensi, oba nga bya nsigo za nsi, oba nga bya bibala bya muti, bya Mukama; biba bitukuvu eri Mukama. Era omuntu bw'anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby'ekkumi, anaagattangako ekitundu kyabyo ekyokutaano. Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ente oba eby'endiga, buli eyita wansi w'omuggo, ebitundu eby'ekkumi binaabanga bitukuvu eri Mukama. Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga, n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu, tenunulibwanga.” Ebyo bye biragiro, Mukama bye yawa Musa olw'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi. Awo Mukama n'ayogera ne Musa mu ddungu ly'e Sinaayi, mu Weema ey'okusisinkanirangamu, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwokubiri, mu mwaka ogwokubiri ng'abaana ba Isiraeri bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, ng'agamba nti, “Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, era mubale abasajja bonna kinnoomu, muwandiike amannya gaabwe gonna. Ggwe ne Alooni mujja kubala abasajja bonna mu Isiraeri abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, abasobola okugenda okutabaala, nga mubabalira mu bibinja byabwe. Mu buli kika mujja kuvaamu omukulu w'ennyumba ya kitaawe, akole nammwe. Era gano ge mannya g'abasajja abanaakola nammwe: okuva mu kika kya Lewubeeni, Erizuuli mutabani wa Sedewuli. Okuva mu kika kya Simyoni, Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. Okuva mu kika kya Yuda, Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. Okuva mu kika kya Isakaali, Nesaneeri mutabani wa Zuwaali. Okuva mu kika kya Zebbulooni, Eriyaabu mutabani wa Keroni. Mu baana ba Yusufu: okuva mu Efulayimu, Erisaama mutabani wa Ammikudi; okuva mu Manase, Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. Okuva mu kika kya Benyamini, Abidaani mutabani wa Gidiyooni. Okuva mu kika kya Ddaani, Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. Okuva mu kika kya Aseri, Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. Okuva mu kika kya Gaadi, Eriyasaafu mutabani wa Deweri. Okuva mu kika kya Nafutaali, Akira mutabani wa Enani.” Abo be baalondebwa okuva mu kibiina, okubeera abakulu b'ebika bya bakitaabwe; era be bakulembeze b'enkumi za Isiraeri. Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya, ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwokubiri, ne baatula obuzaale bwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali. Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo bwe yababalira mu ddungu ly'e Sinaayi. Ab'ekika kya Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, mu kika kya Lewubeeni, baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500). Ab'ekika kya Simyoni ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, mu kika kya Simyoni, baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu (59,300). Ab'ekika kya Gaadi ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, ku kika kya Gaadi, baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano (45,650). Ab'ekika kya Yuda, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, mu kika kya Yuda, baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). Ab'ekika kya Isakaali, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, mu kika kya Isakaali, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina (54,400). Ab'ekika kya Zebbulooni, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo mu kika kya Zebbulooni, baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina (57,400). Mu baana ba Yusufu; okuva mu Efulayimu ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, mu kika kya Efulayimu, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500). Okuva mu kika kya Manase, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, mu kika kya Manase, baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri (32,200). Ab'ekika kya Benyamini, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, ku kika kya Benyamini, baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina (35,400). Ab'ekika kya Ddaani, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, ku kika kya Ddaani, baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). Ab'ekika kya Aseri, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, mu kika kya Aseri, baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano (41,500). Ab'ekika kya Nafutaali, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; abaabalibwa ku bo, mu kika kya Nafutaali, baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400). Abo be baabalibwa Musa ne Alooni, nga bayambibwako abakulembeze ba Isiraeri ekkumi n'ababiri; buli muntu mu nnyumba ya kitaawe. Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala mu Isiraeri; baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550). Naye ab'omu kika kya Leevi, tebaabalibwa ng'ebika ebirala. Kubanga Mukama yagamba Musa nti, “Ekika kya Leevi kyokka kyo tokibalanga, so tobalanga muwendo gwabwe mu baana ba Isiraeri, naye Abaleevi obafuule abakulu b'Eweema ey'okusisinkanirangamu, era ab'ebintu byayo byonna ebigenderako. Banaasitulanga Eweema, n'ebintu byayo byonna; era be banaabanga abaweereza mu yo, era banaasiisiranga okugyetooloola. Era Eweema bw'eneebanga egenda okutambuzibwa, Abaleevi be banaagisimbulanga; era bw'eneebanga esimbibwa, be banaagisimbanga. Munnaggwanga anaagisembereranga anattibwanga. Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe, buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri. Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola Eweema ey'okusisinkanirangamu, abaana ba Isiraeri baleme okusunguwalirwa; era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma Eweema.” Abaana ba Isiraeri bwe batyo bwe baakola nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa. Awo Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Abaana ba Isiraeri banaasiisiranga buli muntu okuliraana n'ebendera ye, awali obubonero bw'ennyumba za bakitaabwe; banaasiisiranga nga batunuulidde Eweema ey'okusisinkanirangamu enjuyi zaayo zonna. Era abo abanaasiisiranga ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva, banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri; era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda. Era eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali emitwalo musanvu mu lukaaga (70,600). N'ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okumuliraana; era Nesaneeri mutabani wa Zuwaali ye anaabanga omukulu w'abaana ba Isakaali; n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina (54,400). N'ekika kya Zebbulooni, era Eriyaabu mutabani wa Keroni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Zebbulooni. N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina (57,400). Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Yuda baali kasiriivu mu emitwalo munaana mu kakaaga mu bina (186,400). Abo be banaasookanga okutambula. “Ku luuyi olw'obukiikaddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri; era Erizuuli mutabani wa Sedewuli, ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni. N'eggye lye, n'abo abaabalibwa ku lyo baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500). N'ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana, era Serumyeri mutabani wa Zulisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Simyoni; n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu (59,300) n'ekika kya Gaadi; era Eriyasaafu mutabani wa Leweri ye anaabanga omukulu w'abaana ba Gaadi; n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano (45,650). Bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu emitwalo etaano mu lukumi mu bina mu ataano (151,450). Bano be banaabanga abokubiri okutambula. “Awo Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambuzibwa, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe. “Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe liri; era Erisaama mutabani wa Ammikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu. N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500). N'ekika kya Manase kye kinaamuddiriranga; era Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Manase; n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri (32,200) n'ekika kya Benyamini; era Abidaani mutabani wa Gidiyooni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Benyamini; n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina (35,400). Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Efulayimu baali kasiriivu mu kanaana mu kikumi (108,100), ng'eggye lyabwe bwe lyali. Abo be banaabanga ab'okusatu mu kutambula. “Ku luuyi olw'obukiikakkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggye lyabwe bwe liri; era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani. N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). N'ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana; era Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Aseri; n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano (41,500). N'ekika kya Nafutaali; era Akira mutabani wa Enani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Nafutaali. N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400). Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Ddaani baali kasiriivu mu emitwalo etaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600) Abo be banaasembangayo okutambula ng'ebendera bwe ziri.” Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550). Naye Abaleevi tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa. Abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe baasiisiranga bwe batyo awali ebendera zaabwe, era bwe batyo bwe baatambulanga, buli muntu ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali. Lino lye zzadde lya Alooni ne Musa, mu kiseera Mukama kye yayogereramu ne Musa ku Lusozi Sinaayi. Era gano ge mannya g'abaana ba Alooni: Nadabu, omubereberye, Abiku, Eriyazaali, ne Isamaali. Ago ge mannya ga batabani ba Alooni; bakabona abaafukibwako amafuta, be yayawula okuweererezanga mu bwakabona. Era Nadabu ne Abiku ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baawaayo omuliro ogutali gugwe mu maaso ga Mukama, mu ddungu ly'e Sinaayi; ne bataba na baana. Awo Eriyazaali ne Isamaali ne baweerezanga mu bwakabona mu maaso ga Alooni kitaabwe. Mukama n'agamba Musa nti, “Sembeza ekika kya Leevi, obateeke mu maaso ga Alooni kabona, bamuweerezenga. banaayambanga kabona n'abantu bonna okutuukiriza bye balagirwa okukola mu Weema ey'okusisinkanirangamu. Era banaakuumanga ebintu byonna eby'omu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ebyo abaana ba Isiraeri bye baalagirwa, n'okukolanga okuweereza okw'omu Weema. Era onooggyanga Abaleevi okuva mu baana ba Isiraeri baweerezenga Alooni ne batabani be. Era onooteekawo Alooni ne batabani be, okukola omulimu gwabwe ogw'obwakabona. Omuntu omulala yenna anaagezangako okugukola, anattibwanga.” Awo Mukama n'agamba Musa nti, “Mu kifo ky'okutwala ababereberye ab'obulenzi mu baana ba Isiraeri, Nze ntuttemu Abaleevi okuba abange. Ababereberye bonna bange; okuviira ddala ku lunaku lwe nnattirako ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri, nneeroboza ababereberye bonna mu Isiraeri, okuva mu bantu era n'ensolo. Banaabanga bange, Nze Mukama.” Awo Mukama n'agambira Musa mu ddungu ly'e Sinaayi nti, “Bala abaana ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri, buli mwana mulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo onoomubala.” Musa n'ababala ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga bwe yalagirwa. Era bano be baana ba Leevi ng'amannya gaabwe bwe gali: Gerusoni, Kokasi ne Merali. Era gano ge mannya g'abaana ba Gerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali: Libuni ne Simeeyi. Abaana ba Kokasi ng'enda zaabwe bwe zaali be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri. N'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ezo ze nda z'Abaleevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali. Mu Gerusoni mwe mwava enda y'Abalibuni, n'enda y'Abasimeeyi; ezo ze nda z'Abagerusoni. Abo abaabalibwa ku bo ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali kasanvu mu bitaano (7,500). Ab'enda z'Abagerusoni banaasiisiranga emabega w'Eweema ku luuyi olw'ebugwanjuba. Eriyasaafu, mutabani wa Laeri y'anaabanga omukulu w'ennyumba ey'Abagerusoni. Omulimu gwa ba Gerusoni mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, gunaabanga gwa kugirabiriranga, awamu n'ebyo ebigibikkako munda ne kungulu, n'okulabirira olutimbe olw'omu mulyango gwayo, n'entimbe ez'oluggya ezirwetooloola, n'ekyoto, n'olutimbe lw'omulyango gw'oluggya olwo, n'emiguwa gyalwo egikozesebwa ku mulimu gwalwo gwonna. Ne mu Kokasi mwe mwava enda y'Abamulaamu, ey'Abaizukaali, ey'Abakebbulooni, n'ey'Abawuziyeeri; ezo ze nda z'Abakokasi. Omuwendo gw'abasajja bonna abaali bawezezza omwezi gumu n'okusingawo gwali kanaana mu lukaaga (8,600). Abo be baalabiriranga awatukuvu nga bwe baalagirwa. Enda z'abaana ba Kokasi banaasiisiranga ku luuyi olw'Eweema olw'obukiikaddyo. Era Erizefani, mutabani wa Wuziyeeri y'anaabanga omukulu w'ennyumba y'Abakokasi. Era omulimu gwabwe gunaabanga kulabirira ssanduuko, n'emmeeza, n'ekikondo, n'ebyoto, n'ebintu eby'omu watukuvu bye baweerezesa n'olutimbe n'okuweereza kwalwo kwonna. Ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ye anaabanga omukulu w'abakulu b'Abaleevi, ng'alabirira abo abakuuma awatukuvu we balagirwa. Mu Merali mwe mwava enda y'Abamakuli n'enda y'Abamusi; ezo ze nda za Merali. Era abo abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali kakaaga mu bibiri (6,200). Era Zuliyeeri, mutabani wa Abikayiri ye mukulu w'enda ya Merali; abo banaasiisiranga ku luuyi lw'ennyumba olw'obukiikakkono. N'omulimu ogw'abaana ba Merali gunaabanga okulabirira embaawo ez'e Weema, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna, n'okuweereza kwayo kwonna; n'empagi ez'oluggya olwetooloola Weema, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo. Musa ne Alooni ne batabani be banaasiisiranga mu maaso g'Eweema ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu okwolekera enjuba gy'eva, nga bakuuma awatukuvu we balagirwa. Omuntu yenna anaasemberanga anattibwanga. Bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni be baabala olw'ekiragiro kya Mukama ng'enda zaabwe bwe zaali, abasajja bonna abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000). Mukama n'agamba Musa nti, “Bala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, owandiike amannya gaabwe. Era mu kifo ky'abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri, njawulira Abaleevi babe bange, Nze Mukama. Era njawulira ebisibo by'Abaleevi bibe byange mu kifo ky'embereberye zonna, mu bisibo by'abaana ba Isiraeri.” Awo Musa n'abala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri, nga Mukama bwe yamulagira. N'abasajja ababereberye bonna abaali bawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, omuwendo gwabwe gwali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsavu mu basatu (22,273). Mukama n'agamba Musa nti, “Njawulira Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri babe bange, n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'ebisibo by'abaana ba Isiraeri; binaabanga byange, Nze Mukama. Olw'okununula abasajja ababereberye ebibiri mu ensanvu mu basatu (273) ab'oku baana ba Isiraeri abasukka ku muwendo gw'Abaleevi, onoosoloozanga sekeri ttaano ku buli muntu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, ze gera abiri (20), era omuwendo ogwo ogw'okununula abo abasukkamu, onooguwanga Alooni ne batabani be.” Musa n'abasoloozako ffeeza enunula abo abaasukka ku abo abataanunulibwa n'Abaleevi. Omuwendo ogwasoloozeebwa ku abo abataanunulibwa n'Abaleevi gwali sekeri lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ssatu (1,363), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri. Awo Musa n'awa Alooni ne batabani be omuwendo gwonna ogwasoloozeebwa, nga Mukama bwe yamulagira. Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Mubale abasajja Abaleevi ab'omu lulyo lwa Kokasi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu egy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu. Omulimu Abakokasi gwe banaakolanga mu Weema eyo, gwe gw'okulabiriranga ebintu ebitukuvu ennyo. “Olusiisira bwe lunaabanga luggyibwawo, Alooni n'abaana be banaayingiranga ne batimbululanga olutimbe ne balubikka ku ssanduuko ey'obujulirwa. era ne bagibikkako amaliba amagonvu, era ne baaliirirako olugoye olwa bbulu, ne bagiyingizamu emisituliro gyayo. “Ne ku mmeeza okuteekwa emigaati egiweebwayo eri Mukama, banaayaliirangako olugoye olwa bbulu ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe ebikozesebwa mu biweebwayo eby'okunywa; n'emigaati egiweebwa Mukama ginaabanga okwo ekiseera kyonna; era banaabibikkangako olugoye olumyufu, era ku lwo ne balyoka babikkako amaliba amagonvu, ne bagiyingizaamu emisituliro gyayo. “Ekikondo ky'ettabaaza, n'ettabaaza zaakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta binaabikkibwangako n'olugoye olwa bbulu, ne bakisabika n'ebintu byakyo byonna mu maliba amagonvu, ne bakiteeka ku muti kwe kisitulirwa. Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa bbulu ne babikkako amaliba amagonvu, ne bakiyingizaamu emisituliro gyakyo; ne baddira ebintu byonna ebikozesebwa mu watukuvu ne babisabika mu lugoye olwa bbulu ne babibikkako amaliba amagonvu, ne babiteeka ku muti kwe bisitulirwa. Ne baggya evvu mu kyoto, ne bakizinga mu lugoye olwa kakobe, ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye bakozesa: engyo, amakato ge bakwasa ennyama, ebijiiko, ebibya, n'ebintu byonna eby'ekyoto ebirala, ne babisabika mu maliba amagonvu, ne bakiyingizaamu emisituliro gyakyo. Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ebintu byonna eby'omuwatukuvu; ng'okusitula kutuuse, ab'olulyo lwa Kokasi ne balyoka bajja okubisitula. Naye tebakwatanga ku bintu ebitukuvu byonna, baleme okufa. Egyo gy'emirimu gy'abasajja ab'omu lulyo lwa Kokasi mu Weema ey'okusisinkanirangamu. Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona, y'anavunaanyizibwanga okuterekanga amafuta g'ettabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'eweema n'ebigirimu byonna; awatukuvu n'ebintu byamu byonna.” Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Temukkirizanga lulyo lwa Kokasi kuzikirizibwanga okuva mu Baleevi; naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, nga basemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne bagabira buli muntu omulimu gwe; naye ab'olulyo lwa Kokasi tebagezanga ne bayingira okutunula ku bintu byonna ebitukuvu, baleme okufa.” Mukama n'agamba Musa nti, “Era bala abasajja ab'omu lulyo lwa Gerusoni, ng'ennyumba za bakitaabwe n'enda zaabwe bwe ziri; abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu egy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu. Gino gy'emirimu gy'abaana ba Gerusoni gye banaakolanga: banaasitulanga entiimbe z'Eweema ey'okusisinkanirangamu, era n'ebigibikkako: eky'omunda n'eky'okungulu, eby'amaliba amagonvu, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'entimbe ez'oluggya, n'olw'omu mulyango ogwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto enjuyi zonna, n'emiguwa gyabyo, n'ebintu byonna ebikozesebwa okuweereza. Ebyo bye banaakolanga. Alooni ne batabani be, be banaagabiranga ab'olulyo lwa Gerusoni emirimu gye banaakolanga. Egyo gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Gerusoni mu Weema ey'okusisinkanirangamu; era Isamaali, mutabani wa Alooni kabona, y'anaabanga omukulu waabwe. “Era onoobala ab'olulyo lwa Merali, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri; abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu gy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu. Gino gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Merali gye banaakolanga mu weema ey'okusisinkanirangamu: okusitula embaawo z'Eweema n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'embaawo ezirimu ebinnya omusimbwa empagi; n'empagi ez'oluggya olwetooloola Weema, n'embaawo ezirimu ebinnya omusimbwa empagi n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, ebikozesebwa mu kuweereza kwonna. Banaagabirwanga emirimu egy'okukola ng'omuwendo gwabwe bwe guli. Egyo gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Merali gye banaakolanga mu weema ey'okusisinkanirangamu; era Isamaali, mutabani wa Alooni kabona, y'anaabaanga omukulu waabwe.” Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala ab'olulyo lwa Kokasi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu. Abaabalibwa baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano (2,750). Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Kokasi, okukolanga emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu nga Mukama bwe yabalagira. N'abo abaabalibwa mu lulyo lwa Gerusoni, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu; baali enkumi bbiri mu lukaaga mu asatu (2,630). Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Gerusoni, abasobola okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu nga Mukama bwe yabalagira. N'abo abaabalibwa mu lulyo lwa Merali, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu, baali enkumi ssatu mu bibiri (3,200). Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Merali nga Mukama bwe yabalagira. Abo bonna Musa ne Alooni n'abakulu ba Isiraeri be baabala ku Baleevi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abayinza okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu, baali kanaana mu bitaano mu kinaana (8,580). Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'abala abantu abasobola okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu ng'emirimu gyabwe bwe gyali. Mukama n'agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli afuuse atali mulongoofu olw'okukoma ku kifudde. Abasajja n'abakazi munaabaggyangamu, munaabafulumyanga ebweru w'olusiisira; balemenga okwonoona olusiisira lwe ntuulamu wakati.” Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne babafulumya ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yagamba Musa. Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna ku muntu munne, ng'asobezza Mukama, era anaabangako omusango; kale anaayatulanga ekibi kye ky'akoze; era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'agattako n'ekitundu kyabyo ekyokutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango. Naye gwe bazzaako omusango bw'aba nga yafa, ate nga talina wa luganda lwe olw'okumpi ayinza kuliyirwa, ekyo ekiriyibwa olw'omusango kinaabanga kya Mukama, ne kabona anaakitwalanga ne kiba kikye, ne kyongerwako endiga ennume eweebwayo nga ssaddaaka olw'okusonyiwa ebibi by'oyo eyazza omusango. Na buli kiweebwayo ekitukuvu abaana ba Isiraeri kye baleeta eri kabona, kinaabanga kikye. Buli kintu kyonna ekitukuvu, omuntu ky'anaaleetanga eri kabona, kinaabanga kya kabona oyo gwe bakikwasizza.” Mukama n'ayogera ne Musa nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Omusajja yenna bw'anaateeberezanga mukazi we obutaba mwesigwa gyali, nga yeegasse n'omusajja omulala mu nkiso ne yeyonoona, so nga ne bba takimanyi era nga tewali muntu amusisinkanirizza okumulumiriza; bba bw'anaamukwatirwanga obuggya nga kituufu ng'omukazi ayonoonye, oba bw'anaamukwatirwanga obuggya nga sikituufu ng'omukazi tayonoonye, kale omusajja oyo anaatwalanga mukazi we eri kabona, n'amuweerayo ekiweebwayo eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri. Takifukangako mafuta gonna, so takiteekangako mugavu; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekijjukiza obutali butuukirivu. Awo kabona anaamusembezanga, n'amuteeka mu maaso ga Mukama, kabona n'addira amazzi amatukuvu agali mu kibya n'agatabulamu enfuufu gy'ayodde wansi mu weema. Kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama, n'amusumulula enviiri n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza obuggya; era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo. Awo kabona anaamulayizanga n'agamba omukazi nti, oba nga tewali musajja eyeegatta naawe, era nga tokyamanga eri obutali bulongoofu ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa, agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi; naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala atali balo nga yeegatta naawe, ganaakukolako akabi. Awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'ekikolimo, n'agamba omukazi nti, Mukama akufuule ekikolimo n'eky'okulabirako mu bantu bo, ng'akoozimbya ekisambi kyo, n'atumbiiza n'olubuto lwo; n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo. Omukazi n'addamu nti Amiina, Amiina.” “Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi agakaawa; n'anywesa omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo; amazzi agaleeta ekikolimo ne gayingira mu ye ne gakaawa. Awo kabona anaaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omukazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akitwala ku kyoto; kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ekijjukizo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago. Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, era bw'anaabanga ayonoonese, nga tabadde mwesigwa eri bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be. Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, nga mulongoofu; kale taabengako kabi konna, era anaasobolanga okuzaala abaana.” Eryo lye tteeka ery'obuggya, omukazi bw'aba ng'afugibwa bba bw'ataabenga mwesigwa n'ayonooneka; oba obuggya bwe bunaakwatanga omusajja, anaaleetanga mukazi we mu maaso ga Mukama, ne kabona anaakolanga byonna ng'etteeka bwe liri. Omusajja taabengako butali butuukirivu, naye omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe. Mukama n'ayogera ne Musa nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, ‘Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga obweyamo ku bubwe yekka, obw'okwewonga, eri Mukama, taanywenga mwenge oba ekitamiiza ekirala kyonna; era tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, wadde okulya ku zabbibu embisi oba enkalu. Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, zibeere nsigo newakubadde ebikuta. Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga, taamwebwengako nviiri ze; anaabanga mutukuvu, anaalekanga enviiri ze okukula. Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, tasembereranga mulambo gwonna. Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa mulambo gwa kitaawe, newakubadde ogwa nnyina, newakubadde ogwa muganda we, newakubadde ogwa mwannyina; kubanga yeewonga ku bubwe yekka eri Katonda. Ennaku zonna ez'okwewonga kwe anaabanga mutukuvu eri Mukama. Singa omutwe gw'omuwonge gufuuka ogutali mulongoofu olw'omuntu afiiridde okumpi naye embagirawo, okwewonga kwe kunaabanga kwonoonese; kale anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka amwa omutwe gwe, n'addamu okuba omulongoofu. Ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga eri kabona enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira; kubanga yeyonoona olw'abafu, anaddangamu n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo. Era anaddangamu okwewonga eri Mukama, ng'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannaweza mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango; naye ennaku ziri ezaasooka ez'okwewonga kwe teziibalibwenga, kubanga kwayonooneka.’ “Era lino lye tteeka ery'omuwonge: ennaku ez'okwewonga kwe bwe zinaabanga ziweddeko anajjanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'awaayo ekiweebwayo kye eri Mukama. Anaawangayo omwana gw'endiga omulume gumu ogutannaweza mwaka era ogutaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannaweza mwaka, ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'emirembe. Era anaawangayo ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, ebitole eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa egisiigibbwako amafuta, n'obutta bwakwo, n'eby'okunywa byakwo ebiweebwayo. Awo kabona anaabyanjulanga mu maaso ga Mukama, n'awaayo ky'awaayo olw'ekibi, n'ekyo ky'awaayo ekyokebwa; n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa; era kabona anaawangayo obutta bwakwo, n'eby'okunywa byakwo ebiweebwayo. Era omuwonge anaamweranga omutwe gwe ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ezo, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe. “Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukusiddwa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukusiddwa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe gwe. Awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama. Ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa; oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge. Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekiweebwayo kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe; obutassaako ebirala byayinza okuwaayo. Ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.” Mukama n'ayogera ne Musa nti, Yogera ne Alooni ne batabani be obagambe nti bwe muti bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri; nga mugamba nti, Mukama akuwe omukisa, akukuume; Mukama akwakize amaaso ge, akukwatirwe ekisa; Mukama akuyimusize amaaso ge, akuwe emirembe. Bwe batyo bwe banaateekanga erinnya lyange mu baana ba Isiraeri; nange n'abawanga omukisa. Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza; awo abakulembeze ba Isiraeri, abakulu be nnyumba za bakitaabwe, be baali abakulu b'ebika, era abaafuganga abo abaabalibwa, ne bawaayo: ne baleeta ekiweebwayo kyabwe mu maaso ga Mukama. Amagaali amabikkeko mukaaga, n'ente kkumi na bbiri (12); nga buli bakulembeze babiri baleese eggaali limu ate nga buli mukulembeze aleese ente emu. Mukama n'agamba Musa nti, “bibaggyeeko bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli.” Musa n'abaggyako amagaali n'ente, n'abiwa Abaleevi. Amagaali abiri n'ente nnya n'abiwa ab'olulyo lwa Gerusoni, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali; n'amagaali ana n'ente munaana n'abiwa ab'olulyo lwa Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali; wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. Naye ab'olulyo lwa ba Kokasi bo tebaaweebwa; kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okusitula, babisituliranga ku bibegabega byabwe. Awo abakulembeze ne bawaayo olw'okuwonga ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta; bawaayo ekiweebwayo kyabwe mu maaso g'ekyoto. Mukama n'agamba Musa nti, “Buli mukulembeze anaawangayo ekiweebwayo kye ku lunaku lwe olw'okutukuza ekyoto.” N'oyo eyawaayo ekiweebwayo kye ku lunaku olwolubereberye yali Nakusoni, mutabani wa Amminadaabu, ow'omu kika kya Yuda: n'ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu ya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. Ku lunaku olwokubiri Nesaneeri mutabani wa Zuwaali, omukulu wa Isakaali, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali: essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Nesaneeri mutabani wa Zuwaali. Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulu w'abaana ba Zebbulooni n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyaabu mutabani wa Keroni. Ku lunaku olwokuna, Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulu w'abaana ba Lewubeeni, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabani wa Sedewuli. Ku lunaku olw'okutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulu w'abaana ba Simyoni, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. Ku lunaku olw'omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulu w'abaana ba Gaadi, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyasaafu mutabani wa Deweri. Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali: essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erisaama mutabani wa Ammikudi. Ku lunaku olw'omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulu w'abaana ba Manase, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Gamalyeri, mutabani wa Pedazuuli. Ku lunaku olw'omwenda Abidaani mutabani wa Gidiyooni, omukulu w'abaana ba Benyamini, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza mwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Abidaani mutabani wa Gidiyooni. Ku lunaku olw'ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulu w'abaana ba Ddaani n'awaayo, ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abaana ba Nafutaali, n'awaayo. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta; ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane; ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akira mutabani wa Enani. Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukibwako amafuta mu mikono gy'abakulembeze ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri (12) ebya zaabu; buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu (130), na buli kibya sekeri nsanvu (70); effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina (2,400), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri (12), ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi (10), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri (120). Ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa, kkumi na bbiri endiga ennume kkumi na bbiri (12), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka, kkumi na babiri (12), n'obutta bwabyo obuweebwayo; n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri (12). Ente zonna okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe abiri mu nnya (24), endiga ennume nkaaga (60), embuzi ennume nkaaga (60), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka nkaaga (60). Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta. Awo Musa bwe yayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu okwogera ne Mukama, n'alyoka awulira Eddoboozi nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku ssanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi. Mukama n'ayogera naye. Mukama n'ayogera ne Musa nti, Yogera ne Alooni omugambe nti, “Bw'onoobanga oteeka ettaala omusanvu ku kikondo kyazo, onooziterezanga ne zimulisa mu maaso g'ekikondo.” Alooni n'akola bw'atyo; n'ateeka ettaala ku kikondo ne zimulisa mu maaso g'ekikondo nga Mukama bwe yalagira Musa. Ekikondo kino kyaweesebwa kyonna mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo; ng'ekifaananyi kyakyo bwe kyali Mukama kye yalagira Musa. Naye bw'atyo bwe yakikola. Mukama n'agamba Musa nti, “Yawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri, obatukuze. Era bw'oti bw'onoobakola okubatukuza: nga omansira ku bo amazzi ag'okubatangirira, era beemwe omubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beetukuze. Kale batwale ente envubuka, n'ekiweebwayo kyakwo eky'obutta, obulungi obutabuddwamu amafuta, n'ente envubuka eyokubiri gitwale okuba ekiweebwayo olw'ekibi. Awo onooyanjula Abaleevi mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'okuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri; n'oyanjula Abaleevi mu maaso ga Mukama. Abaana ba Isiraeri ne balyoka bateeka emikono gyabwe ku Baleevi. Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku lw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okuweereza Mukama. Abaleevi banaateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente; naawe onoowaayo emu ku zo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ey'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okubatangirira. “Onooteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama. Bw'otyo bw'onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isiraeri; n'Abaleevi banaabanga bange. Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobatukuza, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa. Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi okuva mu baana ba Isiraeri; mbeetwalidde mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri. Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba muntu oba nsolo; ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri n'abeetukuliza. Era ntutte Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri. Era mpaddeyo Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni ne batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okuweerezanga ku lw'abaana ba Isiraeri mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga; walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, bwe banaasembera mu watukuvu.” Bw'atyo Musa, Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe baakola Abaleevi nga Mukama bwe yabalagira. Abaleevi ne beetukuza okuva mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubatukuza. Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be; nga Mukama bwe yalagira Musa ebikwata ku Baleevi, nabo bwe batyo bwe baabakola. Mukama n'agamba Musa nti, “Bino bye bikwata ku Baleevi: abawezezza emyaka abiri mu etaano (25) n'okusingawo banaayingiranga okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu. Era bwe banaawezanga emyaka ataano (50), banaalekeranga awo okuweereza mu Weema naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa. Bw'otyo bw'onooteekateeka Abaleevi okutuukirizanga emirimu gyabwe.” Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu mwezi ogwolubereberye ogw'omwaka ogwokubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri nti, “Abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa. Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakwatiranga okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa; ng'amateeka gaakwo n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli.” Musa n'agamba abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako. Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogwolubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola. Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu gwe baakwatako, n'okuyinza ne batayinza kukwata Kuyitako ku lunaku olwo. Abantu abo ne bajja eri Musa ne Alooni ne bamugamba nti, “Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu gwe twakutteko; naye kiki ekitulobera okuwaayo ekiweebwayo kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri?” Musa n'abagamba nti, “Musooke muleke mmale okubuuza Mukama mpulire ky'anaalagira ku mmwe.” Awo Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, Omuntu yenna ku mmwe oba mu mirembe gyammwe, bw'anaabanga nga si mulongoofu olw'okukwata ku mulambo, oba bw'anaabanga atambudde olugendo olw'ewala, n'oyo naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama. Mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, akawungeezi, kwe banaakukwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukusiddwa n'enva ezikaawa. Tebabirekangawo okutuusa enkya, era endiga gye basse okulya, tebaagimenyenga ggumba na limu; ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri, bwe banaakukwatanga bwe batyo. Omuntu yenna omulongoofu, ate nga tali mu lugendo, ataakwatenga Kuyitako mu ntuuko zaakwo, era ataaweengayo kiweebwayo kya Mukama ekyalagirwa, anaabeerangako ekibi kye, era takkirizibwenga kukwata Kuyitako mu mwezi ogwokubiri. Mu nnaggwanga ali mu mmwe bw'anaayagala okukwata okuyitako eri Mukama ng'etteeka ly'okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe kuli, anaakolanga bwatyo. Etteeka linaabanga limu eri munnaggwanga n'omuzaaliranwa.” Awo ku lunaku Eweema kwe yasimbirwa, ekire ne kibikka ku Weema ey'obujulirwa; era akawungeezi ne kiba ku weema ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya. Bwe kyabanga bwe kityo ennaku zonna; ekire kyagibikkangako emisana, n'ekifaananyi ky'omuliro ekiro. Era buli ekire lwe kyaggibwanga ku Weema, abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula; ate mu kifo ekire we kyayimiriranga, abaana ba Isiraeri we baasiisiranga. Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama; ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku Weema basigalanga mu lusiisira. Era ekire bwe kyamalanga ennaku nnyingi ku Weema, abaana ba Isiraeri bakwatanga ekiragiro kya Mukama ne batatambula. Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku Weema ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, olwo ng'abaana ba Isiraeri baasigala mu lusiisira ne batatambula. Ekire bwe kyaggibwanga ku Weema ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne batambula. Era oluusi ekire kyabangawo okuva akawungeezi okutuusa ku makya. Bwe kyaggyibwangawo ku makya, ne batambula. Oba bwe kyabangawo emisana n'ekiro, era kyamalanga kuggyibwawo ne balyoka batambula. Ekire bwe kyabikkanga ku weema okumala ennaku bbiri, oba mwezi oba mwaka, abaana ba Isiraeri baasigalanga mu lusiisira nga tebatambula, naye bwe kyaggyibwangako olwo ne balyoka batambula. Baasiisiranga era baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama: baakwatanga ebyo Mukama bye yabakuutira, okuyita mu Musa. Mukama n'agamba Musa nti, “Weeweeseze amakkondeere abiri ga ffeeza; ganaabanga ga kuyita kibiina, era n'okutambuza olusiisira. Era bwe banaagafuuwanga gombi, ekibiina kyonna kinaakuŋŋaaniranga gy'oli ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. Naye bwe banaafuuwangako erimu lyokka, olwo abakulu b'ebika bya Isiraeri bokka banaakuŋŋaaniranga gy'oli. Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ensiisira eziri ku ludda lw'ebuvanjuba banaatandikanga okutambula. Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu omulundi ogwokubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiikaddyo zinaatambulanga. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu olw'okulagira abantu okutambula. Naye bwe kunaabanga okuyita abantu okukuŋŋaana, munaagafuuwanga naye nga temusirisaamu. Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakkondeere; era ganaabanga gye muli etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna. Era bwe munaatabaalanga omulabe abajooga mu nsi yammwe, munaafuuwanga amakkondeere nga mugasirisaamu; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, naye anaabalokolanga okuva eri balabe bammwe. Ku lunaku olw'essanyu lyammwe ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, n'emyezi gyammwe we ginaatandikiranga, munaafuuwanga amakkondeere ago ku biweebwayo byammwe ebyokebwa ne ku ssaddaaka ez'ebyammwe ebiweebwayo olw'emirembe; era ganaabanga gye muli ekijjukizo mu maaso ga Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe. “Awo olwatuuka mu mwaka ogwokubiri, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, ekire ne kiggibwa kungulu ku Weema ey'obujulirwa. Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani. Ne batandika okutambula ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali kye yalagira Musa. Ebendera ey'olusiisira olw'abaana ba Yuda n'ekulembera, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Isakaali yali Nesaneeri mutabani wa Zuwaali. N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Zebbulooni yali Eriyaabu mutabani wa Keroni. Eweema n'esimbulibwa; batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali, abagyetikkanga ne batambula. Ebendera y'olusiisira lwa Lewubeeni n'etambula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye yali Erizuuli mutabani wa Sedewuli. N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Simyoni yali Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Gaadi yali Eriyasaafu mutabani wa Deweri. Abakokasi ne beetikkanga ebintu ebitukuvu. We baatuukiranga, basanga nga Weema emaze okusimbibwa. Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi. Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Benyamini yali Abidaani mutabani wa Gidiyooni. Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembangayo mu ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Aseri yali Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Nafutaali yali Akira mutabani wa Enani. Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali nga batambula.” Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu tugende ffenna tunakuyisanga bulungi; kubanga Mukama yasuubiza Isiraeri ebirungi. N'amuddamu nti, “Sijja kugenda: naye kanzireyo mu nsi y'ewaffe eri baganda bange.” N'amugamba nti, “Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tusiisira mu ddungu era ggwe maaso gaffe. Bw'onoogenda naffe, buli kirungi Mukama ky'anaatuwanga naawe on'okigabanangako.” Ne bava ku lusozi lwa Katonda, ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu. Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama n'ebakulemberamu okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu. Ekire kya Mukama kyabanga ku bo emisana, bwe baasitulanga okuva mu lusiisira. Awo olwatuukanga essanduuko bwe yasitulwanga Musa n'ayogera nti, “Golokoka, ayi Mukama, abalabe bo basaasaanyizibwe; n'abo abakukyaye badduke mu maaso go.” Era bwe yayimiriranga n'ayogera nti, “Komawo, ayi Mukama, eri emitwalo n'emitwalo gy'Abaisiraeri.” Abantu ne beemulugunyinyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako; Mukama n'abawulira, obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwaka mu bo ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira. Abantu ne bakaabirira Musa; ne Musa n'asaba Mukama, omuliro ne guzikira Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera; kubanga omuliro gwa Mukama gwa yakira mu bo. Awo ekibiina ky'abannamawanga ekyali mu bo ne batandika okwoya ennyo nga beegomba okulya ku nnyama; n'abaana ba Isiraeri nabo ne beemulugunya nga bagamba nti, “Ani anaatuwa ennyama okulya? Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri; wujju n'ensujju n'enva n'obutungulu ne katungulu ccumu. Naye kaakano twetamiddwa. Tetulina kya kulya kyonna kirala, wabula emmaanu eno yokka buli lunaku.” Era emmaanu yaliŋŋanga obusigo obutono nga bweruyeru. Abantu ne bagenda ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu ne bagiggyamu emigaati; n'okuwooma kwayo kwaliŋŋaanga okuwooma kw'emigaati egisiikiddwa mu mafuta. Era omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro, n'emmaanu n'egwiranga wamu nagwo. Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala. Awo Musa n'agamba Mukama nti, “Kiki ekikunkozezza obubi bw'otyo, era lwaki tonsasiide, n'okussa n'onzisaako omugugu gw'abantu bano bonna. Nze nnali olubuto lw'abantu bano bonna? Nze nnabazaala, n'okugamba n'oŋŋamba nti, ‘Basitule mu kifuba kyo ng'omulezi w'omwana bw'asitula omwana ayonka, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajjaabwe?’ Nze nzigye wa ennyama okugabira abantu bano bonna, abankaabirira nga boogera nti tuwe ennyama tulye? Nze siyinza kusitula bantu bano bonna nzekka, kubanga banzitooweredde nnyo. Oba nga bw'oti bw'ogenda okunkola, nkwegayiridde, nsaasira, onzitire ddala mangu kaakano, nneme kulaba nnaku bwe nti.” Mukama n'agamba Musa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde ba Isiraeri, b'omanyi nga bakulu era abakulembeze abassibwamu ekitiibwa; obaleete ku weema ey'okusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe. Nange nnakka ne njogerera naawe eyo; era n'atoola ku mwoyo oguli ku ggwe, ne nguteeka ku bo; nabo banaasitulanga omugugu gw'abantu awamu naawe, gulemenga kubeera ku ggwe wekka.” Era gamba abantu nti, “Mwetukulize olunaku olw'enkya, era munaalya ennyama kubanga Mukama awulidde okukaaba kwammwe nga mwemulugunya nti ani anaatuwa ennyama okulya? Kubanga mugamba nti twali bulungi mu Misiri; Mukama ky'anaava abawa ennyama ne mulya. Temugiriireko lunaku lumu, oba bbiri, oba ttaano, oba kkumi, wadde abiri; naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa; kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwemulugunya nti, ‘twaviiraki e Misiri?’ ” Musa n'agamba nti, “Abantu be ndi nabo, abasajja abatambuza ebigere bawera emitwalo nkaaga (600,000), naye ogambye nti ndibawa ennyama bagiriireko omwezi omulamba! Banaabattiranga endiga n'ente nezibamala? Oba banaabavubiranga ebyennyanja byonna eby'omu nnyanja biryoke bibamale?” Mukama n'agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama guyimpawadde? Kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli oba nedda.” Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama; n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema. Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku Musa; n'aguteeka ku bakadde ensanvu (70) awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne balekera awo. Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema, ne balagulira mu lusiisira. Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa, n'agamba nti, “Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira.” Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde n'addamu n'agamba nti, “Mukama wange Musa, bagaane.” Musa n'agamba nti, “Okwatibbwa obuggya olw'ekifo kyange? Nze nnandyagadde wakiri, Mukama abantu bonna abawe Omwoyo gwe, bonna babe bannabbi.” Musa n'abakadde ba Isiraeri ne baddayo mulusiisira. Embuyaga n'eva eri Mukama, n'ereeta enkwale okuva mu nnyanja nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mikono ebiri okuva ku ttaka, n'ezisuula okwetooloola olusiisira, mu bbanga nga lya lugendo lwa lunaku olumu. Abantu ne bagenda ne bazibya olunaku olwo, ne bakeesa obudde, ne bazibya n'olunaku olwaddirira nga bakuŋŋaanya enkwale. Eyakuŋŋaanya entono, yakuŋŋaanya Komeri kkumi; ne bazaanika wonna okwetooloola olusiisira. Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'abasuulamu kawumpuli. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kiberosukataava, kubanga we baaziika abantu abaaluvuwalira ennyama. Abantu ne basitula e Kiberosukataava ne batambula ne bagenda e Kazerosi; ne basiisira eyo. Awo Miryamu ne Alooni ne boogera bubi ku Musa kubanga yawasa omukazi Omukuusi. Ne boogera nti, “Mazima ddala Mukama yayogerera mu Musa yekka? Tayogerera mu ffe?” Mukama n'abiwulira. Naye omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna. Mukama n'ayogera mangu ago ne Musa ne Alooni ne Miryamu nti, “Mwensatule mufulume mujje ku Weema ey'okusisinkanirangamu.” Awo bonsatule ne bafuluma. Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'eweema, n'ayita Alooni ne Miryamu; bombi ne basembera. N'ayogera nti, “Muwulire nno ebigambo byange; mummwe bwe munaabangamu nnabbi, neeyolekanga gy'ali mu kwolesebwa oba nnaayongeranga naye mu kirooto. Naye eri omuddu wange Musa si bwe kiri bwe kityo; oyo nnamukwasa ennyumba yange yonna. Oyo njogera naye maaso n'amaaso, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'enfaanana yange agiraba. Kale muyinza mutya obutatya kwogera bubi ku muddu wange Musa?” Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bo; n'avaawo. Ekire ne kiva waggulu ku weema; era laba, Miryamu ng'aliko ebigenge, ng'atukula ng'omuzira. Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, nga agengewadde! Alooni n'agamba Musa nti, “Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era tukoze ekibi. Nkwegayiridde ono tomuleka kuba ng'omwana azaalibwa ng'afudde, n'omubiri gwe nga guvunzeeko ekitundu.” Awo Musa n'akaabira Mukama ng'ayogera nti, “Muwonye, ayi Katonda, nkwegayiridde.” Mukama n'agamba Musa nti, “ Singa kitaawe ye abadde amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde n'obuswavu okumala ennaku musanvu? Kale asibirwe ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu, n'oluvannyuma balyoke bamukomyewo ayingire.” Miryamu n'asibirwa ebweru w'olusiisira ennaku musanvu. Abantu ne batatambula okutuusa Miryamu lwe yayingizibwa nate. Awo oluvannyuma abantu ne basitula e Kazerosi ne batambula ne basiisira mu ddungu lya Palani. Awo Mukama n'agamba Musa nti, “Tuma abantu bakette ensi ya Kanani, gyempa abaana ba Isiraeri: onooggya omuntu omu, omukulembeze mu buli kika omutume.” Awo Musa n'abatuma ng'ayima mu ddungu lye Palani ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali; abasajja bonna abaali abakulembeze be bika by'abaana ba Isiraeri. N'amannya gaabwe ge gano: mu kika kya Lewubeeni, Semuwa mutabani wa Zakula. Mu kika kya Simyoni, Safati mutabani wa Koli. Mu kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefune. Mu kika kya Isakaali, Igali mutabani wa Yusufu. Mu kika kya Efulayimu, Koseya mutabani wa Nuuni. Mu kika kya Benyamini, Paluti mutabani wa Lafu. Mu kika kya Zebbulooni, Gadyeri mutabani wa Sodi. Mu kika kya Yusufu, kye kika kya Manase, Gaadi mutabani wa Susi. Mu kika kya Ddaani, Ammiyeri mutabani wa Gemali. Mu kika kya Aseri, Sesula mutabani wa Mikaeri. Mu kika kya Nafutaali, Nakabi mutabani wa Vofesi. Mu kika kya Gaadi, Geweri mutabani wa Maki. Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi. Musa n'atuuma Koseya, mutabani wa Nuuni, Yoswa. Musa n'abatuma okuketta ensi ya Kanani n'abagamba nti, “Mwambukire mu kkubo lino ery'obukiikaddyo mulinnye ku nsozi, mulengere ensi bw'eri; n'abantu abagituulamu oba nga ba maanyi oba nga banafu, oba nga batono oba nga bangi; era ensi bw'eri gye batuulamu, oba nga nnungi oba nga mbi; n'ebibuga bwe biri bye batuulamu, oba nga nsiisira, oba nga bigo ebigumu; era ensi bw'eri, oba nga ngimu oba nga nkalu, oba nga mulimu emiti oba temuli. Mugume omwoyo, muleete ku bibala byamu.” Ebiro ebyo byali biro bya zabbibu ezisooka okwengera. Awo ne bambuka, ne baketta ensi okuva mu ddungu lya Zini, Lekobu, n'okutuusa w'oyingirira e Kamasi. Ne bambukira mubukiikaddyo obwa ddyo, ne batuuka e Kebbulooni; era abaana ba Anaki: Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi baali babeera eyo. Kebbulooni kyali kyakamala emyaka musanvu okuzimbibwa, ne balyoka bazimba ne Zowani ekiri mu Misiri. Abakessi ne batuuka mu kiwonvu e Esukoli, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu eky'ezabbibu, abantu babiri ne bakisitulira ku misituliro, era ne baleetayo ne ku makomamawanga ne ku ttiini. Ekifo ekyo ne kiyitibwa ekiwonvu Esukoli, olw'ekirimba abaana ba Isiraeri kye baatemayo. Awo ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi okumala ennaku ana (40). Ne bakomawo eri Musa ne Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu ddungu lye Palani, e Kadesi; ne bababuulira byonna bye baalaba, ne babalaga n'ebibala by'ensi. Ne bababuulira nti, “Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo. Naye abantu abatuula mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe biriko enkomera, binene nnyo: era twalabayo n'abaana ba Anaki. Abamaleki batuula mu nsi ey'obukkiikkaddyo, Abakiiti, Abayebusi, Abamoli, batuula ku nsozi: n'Abakanani batuula kumpi n'ennyanja, ku lubalama lwa Yoludaani.” Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti, “Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula.” Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti, “Tetuyinza kwaŋŋaanga bantu abo kubanga batusinza nnyo amaanyi.” Ne basaasaanya mu Baana ba Isiraeri amawulire amabi ag'obulimba agafa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti, “ Ensi gye twagenda okuketta, nsi nkalu, etebaza mmere eyinza okumala abantu abagituulamu, n'abantu bonna be twalabayo baali bawagguufu. Era twalabayo Abanefiri, bazzukulu ba Anaki. Tweraba nga tuli basirikitu ng'obwacaaka, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.” Awo ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba nnyo amaziga ekiro ekyo. Ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y'e Misiri, oba singa twafiira mu ddungu muno! Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n'ekitala? Bakazi baffe n'abaana baffe abato baliba munyago; si kye kisinga obulungi gyetuli okuddayo mu Misiri?” Ne bagambagana nti, “Twerondere omukulembeze,” tuddeyo e Misiri. Awo Musa ne Alooni ne bavuunamira ddala ku ttaka mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri. Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali ku muwendo gw'abo abaaketta ensi, ne bayuza engoye zaabwe; ne babuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nga boogera nti, “Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo. Oba nga Mukama atusiima alituyingiza mu nsi omwo, n'agituwa; ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki. Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi; kubanga kya kulya gyetuli. Mukama abavuddemu, ali wamu naffe, temubatya.” Naye ekibiina kyonna ne kyagala okubakuba amayinja. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu Weema ey'okusisinkanirangamu eri abaana ba Isiraeri bonna. Mukama n'agamba Musa nti, “Abantu bano balituusa wa okunnyooma? Era balituusa wa obutanzikiriza olw'eby'amagero byonna bye nnakolera mu bo? Nja kubakuba ne kawumpuli, mbaggyeeko n'obusika bwabwe, naye ggwe nkuggyemu eggwanga eribasinga bo obunene n'amaanyi.” Naye Musa n'agamba Mukama nti, “ Ggwe waggya abantu bano e Misiri, ng'okozesa obuyinza bwo. Abamisiri bwe baliwulira ky'okoze abantu bo, balikibuulira abantu ababeera mu nsi eno. Sso nga bano baamala dda okuwulira nga Ggwe, ayi Mukama, oli wamu n'abantu bano, era nti obalabikira mu lwatu, ekire kyo bwe kiyimirira waggulu ku bo, era ng'obakulembera mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro. Kale bw'onotta abantu bano bonna ekirindi, amawanga agaawulira ettutumu lyo balyogera nti, ‘Mukama yalemererwa okuyingiza bantu bano mu nsi gye yabalayirira, kyeyava abattira mu ddungu.’ Kale kaakano, nkwegayiridde ayi Mukama, laga obuyinza bwo obungi okole kye wasuubiza bwe wagamba nti, ‘Nze Mukama, ndwawo okusunguwala, nnina okwagala kungi, nsonyiwa ebibi n'obujeemu, naye sirema kubonereza muntu olw'omusango gw'azzizza. Era mbonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku mulembe ogwokusatu n'ogwokuna olw'ebibi bya bajjajjaabwe.’ Nkwegayiridde sonyiwa, obutali butuukirivu bw'abantu bano ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, era nga bwe wasonyiwanga abantu bano okuva mu Misiri okutuusa leero.” Mukama n'agamba nti, “Nsonyiye ng'ekigambo kyo bwe kibadde. Naye mazima ddala, nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi zonna bwe zirijjula ekitiibwa kya Mukama; abasajja bano bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'eby'amagero byange bye nnakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne banjeemera emirundi gino ekkumi (10), ne batawulira ddoboozi lyange; mazima tewaliba n'omu ku abo abannyooma, aliraba ensi gye nnalayirira bajjajjaabwe. Naye omuddu wange Kalebu, kubanga ye alina omwoyo omulala mu ye, era ye angobererera ddala, oyo ndimutuusa mu nsi gye yagendamu okuketta; n'ezzadde lye lirigirya. Kale Omwamaleki n'Omukanani nga bwe batuula mu kiwonvu; enkya mukyuke, mugende mu ddungu mu kkubo eriyita ku Nnyanja Emmyufu.” Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri kwe banneemulugunyiza. Bagambe nti, Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, mazima nga bwe mwogedde, mpulidde, era bwe ntyo bwe nnaabakola: emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno; n'abo bonna abaabalibwa ku mmwe, ng'omuwendo gwammwe gwonna bwe gwali, abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, abanneemulugunyiza, mazima temulituuka mu nsi, gye nnabalayirira okubatuuzamu, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Naye abaana bammwe abato, be mugambye okuba omunyago, abo bo ndibayingiza, mu nsi gye mugaanyi, ne batuula omwo. Naye mmwe, emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno. N'abaana bammwe balibungeetera mu ddungu emyaka ana (40), nga babonaabona olw'obutali bwesigwa bwammwe, okutuusa lwe mulifiira mu ddungu ne muggwaawo. Ng'omuwendo gw'ennaku bwe gwali ze mwaketteramu ensi, ze nnaku ana (40), buli lunaku ndufudde mwaka, bwe munaabangako bwe mutyo obutali butuukirivu bwammwe, okumala myaka ana (40), era mulijjukira bye n'abagamba. Nze Mukama njogedde, mazima ndikola bwentyo ekibiina kino kyonna ekibi, ekinkuŋŋaaniddeko okunjeemera. Mu ddungu muno mwe balizikiririra, era mwe balifiira.” Abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo abaakomawo ne bagyogerako ebigambo ebibi eby'obulimba ebyaleetera ekibiina kyonna okwemulugunyiza Mukama, abantu abo abaayogera ebigambo ebibi eby'obulimba ku nsi eyo, ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama. Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune ne basigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi. Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri bonna ebigambo ebyo; abantu ne banyolwa nnyo. Ne bagolokoka enkya ku makya, ne bagenda ku ntikko y'olusozi nga boogera nti, “Laba, tutuuno, era tunaayambuka mu kifo Mukama kye yasuubiza; kubanga twayonoona.” Musa n'agamba nti, “Kaakano musobeza ki ekiragiro kya Mukama? Temujja kuwangula. Temwambuka, kubanga Mukama tali nammwe; abalabe bammwe bajja kubawangula; kubanga Omwamaleki n'Omukanani bali mu maaso gammwe, era munaagwa n'ekitala: kubanga mwajeema; Mukama kyanaava alema okubeera nammwe.” Naye ne beeyinula okulinnya ku ntikko y'olusozi; naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama teyava mu lusiisira, wadde Musa. Awo Omwamaleki n'aserengeta, n'Omukanani eyatuula ku lusozi okwo, ne babakuba ne babaseera ddala okutuusa e Koluma. Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye mbawa okutuulamu era bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama, ku nte oba ku ndiga; ekiweebwayo n'omuliro, n'ekiweebwayo ekyokebwa, oba ssaddaaka okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo mu kweyagalira oba okuwaayo ku mbaga zammwe ezaalagirwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; kale oyo anaawangayo ekiweebwayo kye, anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo eky'obutta eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa, ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu ekyokuna ekya ini ey'amafuta. Buli mwana gw'endiga ogunaawebwangayo ng'ekiweebwayo ekyokebwa oba olwa ssaddaaka endala yonna, oyo awaayo anaaleterangako envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa, ekitundu ekyokuna ekya ini. Bwanaawangayo endiga ennume, anaaleterangako ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'amafuta; Ku kiweebwayo eky'okunywa anaawangayo ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'envinnyo ey'akawoowo eri Mukama. Era bw'anaaleetanga ente okuba ekiweebwayo ekyokebwa oba okuba ssaddaaka okutuukiriza obweyamo, oba okuba ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama; anaaleterangako ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bisatu eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi, obutabuddwamu ekitundu kya ini ey'amafuta. Era anaaleterangako ekiweebwayo eky'okunywa, ekitundu kya ini ey'envinnyo ey'akawoowo eri Mukama.” “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku buli nte, oba ku buli ndiga ennume, oba ku buli mwana gw'endiga omulume, oba abaana b'embuzi. Obungi bw'ebintu ebyo ebigenderako buneeyongeranga okusinziira ku bungi bw'ensolo ze munaategekanga okuwaayo. Enzaalwa bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. Era omugenyi bw'anaatuulanga nammwe, oba buli anaabanga mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna, era ng'ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; nga mmwe bwe mukola, naye bw'anaakolanga bw'atyo. Mu kibiina, wanaabangawo etteeka limu gye muli, n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe, etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna; nga mmwe bwe muli, n'omugenyi bw'anaabanga bw'atyo mu maaso ga Mukama. Etteeka n'obulombolombo binaabanga bye bimu gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe.” Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwala, ne mulya ku mmere gye mulimye mu nsi eyo, munaatoolangako ne muwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama. Ku kitole ekisooka ekikandiddwa kwe munaggyanga omugaati ne muguwaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa; nga bwe mukola ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omu guuliro, bwe munaakisitulanga bwe mutyo. Ku kitole kyammwe ekisooka ekikandiddwa, kwe munaggyanga ekiweebwayo ekisitulibwa okuwa Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.” “Era bwe munaasobyanga ne mutakwata biragiro bino byonna Mukama bye yabuulira Musa, byonna Mukama bye yabalagira ng'ayita mu Musa, okuva ku lunaku Mukama lwe yaweerako ebiragiro ebyo, ne mu mirembe gyammwe gyonna; awo olunaatuukanga, bwe munaabanga mukikoze nga temugenderedde, ekibiina nga tekimanyi, ekibiina kyonna kinaawangayo ente emu envubuka okuba ekiweebwayo ekyokebwa, olw'evvumbe eddungi eri Mukama, era munaaleeterangako n'ekiweebwayo eky'obutta, n'ekiweebwayo eky'okunywa ng'etteeka bwe liri, n'embuzi emu ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi. Era kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, era banaasonyiyibwanga; kubanga basobezza nga tebagenderedde, era nga baleese ekiweebwayo kyabwe, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo kyabwe olw'ekibi mu maaso ga Mukama, olw'okusobya kwabwe. Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri banaasonyiyibwanga, n'omugenyi atuula mu bo; kubanga kyakolebwa abantu bonna nga tebagenderedde. Era omuntu bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, anaawangayo embuzi enduusi ewezezza omwaka okuba ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaatangiriranga mu maaso ga Mukama, omuntu asobezza nga tagenderedde; era anaasonyiyibwanga. Munaabanga n'etteeka limu eri enzaalwa n'eri omugenyi atuula mu mmwe, anaakolanga ekikolwa kyonna nga tagenderedde.” “Naye omuntu anaakolanga ekikolwa kyonna n'ekyejo, oba nga nzaalwa oba nga mugenyi, oyo ng'avvodde Mukama; omuntu oyo anattibwanga, kubanga anyoomye ekigambo kya Mukama era ng'amenye ekiragiro kye; omuntu oyo anattibwanga; obutali butuukirivu bwe bunaabanga ku ye.” Awo abaana ba Isiraeri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basanga omuntu ng'atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti. N'abo abaamusanga ng'atyaba enku ne bamuleetera Musa ne Alooni n'ekibiina kyonna. Ne bamusiba, kubanga baali tebannamanya kyakumukolera. Mukama n'agamba Musa nti, “Omuntu oyo ateekwa okuttibwa. Ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira.” Ekibiina kyonna ne kimutwala ebweru w'olusiisira, ne kimukuba amayinja, n'afa; nga Mukama bwe yalagira Musa. Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri obalagire okwekolera ebijwenge ku nkugiro z'ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateekeko omuguwa ogwa bbulu ku bijwenge ebiri ku buli lukugiro; Buli lwe munaalabanga ebijwenge ebyo, binaababeereranga akabonero okubajjukiza ebiragiro byonna ebya Mukama. Mu bikwatenga; muleme okunvaako nga mukola ng'okwegomba kw'emitima gyammwe n'amaaso gammwe bwe kuli. Mujjukire ebiragiro byange byonna mubikwate mube batukuvu eri Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.” Awo Koola, mutabani wa Izukali, Izukali mutabani wa Kokasi, asibuka mu Leevi, ng'ali wamu ne Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, ne Oni mutabani wa Peresi, ab'omu kika kya Lewubeeni, ne bawakanya obukulembeze bwa Musa. Ne beegattibwako Abaisiraeri abalala bibiri mu ataano (250), abakulembeze abaatiikirivu abaalondebwa mu kibiina. Ne balumba Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Muyitirizza okwekuza, kubanga buli muntu mu kibiina mutukuvu, kale lwaki mwegulumiza okusinga ekibiina kya Mukama kyonna?” Awo Musa bwe yakiwulira, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise. Musa n'agamba Koola nti, “Enkya ku makya Mukama anaatulaga owuwe gw'alonze. Oyo owuwe gw'anaalonda, anaamuleka n'asembera gy'ali. Mukole bwe muti; enkya ku makya, ggwe Koola, ne banno bonna, mutwale ebyoterezo, mubisseeko omuliro n'obubaane nga muli mu maaso ga Mukama. Mukama omuntu gw'analonda ye anaaba omutukuvu; nammwe batabani ba Leevi, muyitirizza okwekuza.” Musa n'agamba Koola nti, “Muwulire nno, mmwe batabani ba Leevi; Mukiyita kitono, Katonda wa Isiraeri okubaawula mmwe mu kibiina ky'Abaisiraeri okubasembeza gy'ali, okukolanga omulimu ogw'okuweereza mu Weema ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okukiweereza? Mukama yakuwa ggwe ne Baleevi banno bonna ekitiibwa ekyo, era mukaayanira n'obwakabona? Lwaki ggwe ne banno mujeemera Mukama; ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza?” Musa n'atumya Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu; ne bagamba nti, “Tetujja kujja. Okiyita kitono ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, n'otuleeta okututtira mu ddungu, era n'otwefuulirako omulangira? N'ekirala totuleese mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, so totuwadde busika bwa nnimiro n'ensuku ez'emizabbibu; kati oyagala kutubuzaabuza? Tetujja kujja.” Awo Musa n'asunguwala nnyo n'agamba Mukama, nti, “Tokkiriza kiweebwayo kye bakuleetera. Sibaggyangako wadde endogoyi emu, era sirina n'omu ku bo gwe nali nkoze obubi.” Musa n'agamba Koola nti, “Ggwe n'ekibiina kyo kyonna ne Alooni, enkya ku makya mujje mu maaso ga Mukama. Ggwe Koola ne banno ebibiri mu ataano (250) ne Alooni, muddire ebyoterezo byammwe, mubiteekeko obubaane, mu bireete mu maaso ga Mukama.” Ne baddira buli muntu ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu wamu ne Musa ne Alooni. Koola n'akuŋŋaanyiza ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu nga boolekedde Musa ne Alooni; ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna. Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Muve wakati mu kibiina kino ndyoke nkizikirize mangu ago.” Awo Musa ne Alooni ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, omuntu omu ng'ayonoonye onoosunguwalira ekibiina kyonna?” Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba ekibiina nti, ‘Mugolokoke muve awali Weema ya Koola, Dasani, ne Abiraamu.’ ” Musa n'agolokoka n'agenda eri Dasani ne Abiraamu; abakadde ba Isiraeri ne bamugoberera. N'agamba ekibiina nti, “Mbeegayiridde, muve awali weema ez'abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyabwe kyonna, muleme okuzikirizibwa olw'ebibi byabwe byonna.” Awo ne bava awali ennyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu. Naye Dasani ne Abiraamu, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe abakulu n'abato ne bafuluma ne bayimirira ku miryango gy'eweema zaabwe. Musa n'agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola. Abantu bano bwe balifa ng'abantu bonna bwe bafa bulijjo nga tebatuukiddwako kibonerezo kya njawulo; kale Mukama nga teyantuma. Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.” Awo olwatuuka, bwe yali ng'agenda okumala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka eryali wansi waabwe ne lyasama. Ne libamira bo, wamu ne Koola n'abantu be bonna, n'ennyumba zaabwe, n'ebintu byabwe byonna. Ne bakka bonna n'ebyabwe nga balamu mu bunnya, ettaka ne libasanikira ne basaanawo. Abaisiraeri bonna abaali babeetooloodde ne badduka olw'okukaaba kwabwe, nga nabo batya ettaka okubamira. Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano (250) abaawaayo obubaane. Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona, aggye ebyoterezo mu bintu ebyokeddwa, kubanga ebyoterezo ebyo bitukuvu, era asaasaanye amanda g'omuliro agabirimu. Ebyoterezo bya bajeemu abo abaafa biweesebwemu embaati zibikkenga ku kyoto, kubanga baabiwaayo mu maaso ga Mukama, era bitukuvu, binaabanga akabonero eri abaana ba Isiraeri bonna.” Awo Eriyazaali kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo, eby'abantu abayokebwa bye baawaayo, ne babiweesamu embaati ez'okubikkanga ku kyoto, okujjukizanga Abaisiraeri nti buli muntu atali wa lulyo lwa Alooni, alemenga okusembera mu maaso ga Mukama okunyookeza obubaane, sikulwa ng'azikirizibwa nga Koola n'abagoberezi be. Ebyo byonna byakolebwa, nga Mukama bwe yagamba Eriyazaali ng'ayita mu Musa. Naye ku lunaku olwaddirira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti, “Mwasse abantu ba Mukama.” Awo olwatuuka, ekibiina bwe kyali kikuŋŋaanidde ku Musa ne ku Alooni, ne batunuulira Eweema ey'okusisinkanirangamu; era, laba, ekire nga kigibisseeko, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika. Musa ne Alooni ne bajja mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Mukama n'agamba Musa nti, “Mugolokoke muve wakati mu kibiina kino, mbazikirize mangu ago.” Ne beeyala ku ttaka nga beevuunise. Musa n'agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo, oggye omuliro ku kyoto oguteeke omwo, osseeko obubaane, okitwale mangu eri ekibiina, obatangirire; kubanga obusungu bufulumye eri Mukama, kawumpuli atanudde.” Alooni n'addira nga Musa bwe yayogera, n'adduka n'agenda wakati mu kibiina; era, laba, kawumpuli ng'atanudde mu bantu. N'ayimirira wakati w'abafu n'abalamu; kawumpuli n'aziyizibwa. N'abo abaafa kawumpuli baali omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu (14,700), obutassaako abo abaafa olw'ebigambo bya Koola. Alooni n'addayo eri Musa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu; kawumpuli n'aziyizibwa. Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri, bakuwe emiggo kkumi n'ebiri (12), gumu okuva ku buli mukulu w'ekika, owandiike erinnya lya buli mukulu w'ekika ku muggo gwe. Era owandiike erinnya lya Alooni ku muggo gw'ab'ekika kya Leevi, kubanga buli mukulu wa Kika anaaba n'omuggo gumu. Era onoogiteeka mu Weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'essanduuko ey'endagaano we nsisinkanira nammwe. Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka, ekyo kye kinaamalawo okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri okw'olutata.” Musa n'agamba abaana ba Isiraeri; era abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo. Buli mukulu wa kika omuggo gumu, ng'ebika byabwe bwe biri, gy'emiggo kkumi n'ebiri (12); n'omuggo gwa Alooni gwali wamu nagyo. Musa n'ateeka emiggo mu Weema, mu maaso g'essanduuko ey'endagaano. Ku lunaku olwaddirira, Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'alaba ng'omuggo gwa Alooni ogw'ab'omu kika kya Leevi, gulose ne guleeta omutunsi, ne gusansula, ne gubala ebibala nga byengevu. Musa n'aggyayo emiggo gyonna, n'agifulumya n'agitwalira abaana ba Isiraeri bonna ne bagikebera, buli mukulu wa kika n'atwala ogugwe. Mukama n'agamba Musa nti, “Zzaayo omuggo gwa Alooni mu maaso g'essanduuko ey'endagaano, gukuumibwenga, gube akabonero akalabula abajeemu, nti bajja kufa, bwe batakomya kunneemulugunyiza.” Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. Abaana ba Isiraeri ne bagamba Musa nti, “Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde. Oba nga buli anaasemberanga okumpi n'Eweema ya Mukama anaafanga, olwo ffenna tetuuzikirire ne tuggwaawo?” Mukama n'agamba Alooni nti, “Ggwe ne batabani bo n'ab'omu kika kyammwe, munaavunaanwanga ebinaabanga bisobye mu kifo ekitukuvu. Naye ebinaasobanga mu bwa kabona, binaavunaanwanga ggwe ne batabani bo mwekka. Onooleetanga baganda bo, ab'omu kika kya Leevi, bakuyambenga mu kuweereza. Naye ggwe ne batabani bo, mmwe munaaweerezanga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era baganda bo banaakolanga emirimu gy'obalagira, n'emirimu gyonna egy'omu Weema, naye tebasembereranga bintu eby'omu watukuvu n'ekyoto, baleme okufa newakubadde mmwe. Banaakoleranga wamu naawe, okulabirira Weema ey'okusisinkanirangamu, nga bakola emirimu gyamu gyonna. Naye atali Muleevi, tabasembereranga. Mmwe munaalabiriranga awatukuvu n'ekyoto, nneme kusunguwaliranga baana ba Isiraeri nate. Nange, laba, Nze nnonze baganda bammwe Abaleevi mu baana ba Isiraeri, okuba ekirabo gye muli. Baweereddwayo gyendi, Nze Mukama, okukolanga omulimu gw'obuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu. Naye ggwe ne batabani bo munaakolanga omulimu gwammwe ogw'obwakabona ogw'oku kyoto n'awatukuvu. Okuweereza mu bwakabona, nkibawa mmwe ng'ekirabo. Omuntu omulala yenna anaasembereranga ebintu ebitukuvu, anattibwanga.” Mukama n'agamba Alooni nti, “Laba, Nze nkuwadde ebiweebwayo gye ndi ebisitulibwa, ebintu byonna eby'abaana ba Isiraeri ebitukuzibwa, mbiwadde ggwe ne batabani bo, olw'okufukibwako amafuta, okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna. Ku bintu byonna ebitukuvu ennyo ebiweebwayo, ebinaafikkangawo ku by'okwokebwa, bino bye binaabanga ebyammwe: ku buli kye bawaayo eky'obutta, na ku buli kye bawaayo olw'ekibi, na buli kye bawaayo olw'omusango, bye banaaleetanga, binaabanga bitukuvu nnyo, binaabanga bibyo ne batabani bo. Onoobiriranga mu kifo ekitukuvu, buli musajja yenna akkirizibwa okubiryangako. Binaabanga bitukuvu gye muli.” “Era na bino bibyo: ebiweebwayo ebisitulibwa byonna abaana ba Isiraeri bye bawaayo ebiwuubibwawuubibwa, mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo, okuba omugabo gwammwe ennaku zonna; na buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaabiryangako.” “Era nkuwadde amafuta gonna agasinga obulungi ne zabbibu zonna ezisinga obulungi, ne ku ŋŋaano, n'ebibereberye ku ebyo bye banaawanga Mukama. Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleeteranga Mukama, binaabanga bibyo; na buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaabiryangako. Buli kintu ekinaawongebwanga mu Isiraeri kinaabanga kikyo. Buli ekiggulanda ekiweebwayo eri Mukama, oba nga muntu oba nsolo binaabanga bibyo. Naye on'okkirizanga ensimbi ez'okununula omwana omugulanda, era on'okkirizanga ensimbi ez'okununulanga ensolo eteri nnongoofu. Abaana banaanunulibwanga nga ba mwezi gumu, ku muwendo omugereke ogwa sekeri ttaano eza ffeeza, ez'ekipimo ekitongole eky'omu kifo ekitukuvu, ze gera abiri (20) buli sekeri. Naye embereberye y'ente, oba embereberye y'endiga, oba embereberye y'embuzi, tozinunulanga ezo, ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n'oyokya amasavu gaazo okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. N'ennyama yaazo eneebanga yiyo, ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekya ddyo binaabanga bibyo Byonna ebiweebwayo ebisitulibwa ku bintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna; ye ndagaano ey'omunnyo eteriggwaawo mu maaso ga Mukama eri ggwe n'eri ezzadde lyo. Mukama n'agamba Alooni nti Toobenga na busika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; nze mugabo gwo n'obusika bwo mu baana ba Isiraeri.” “Era, laba, abaana ba Leevi mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi, abaana ba Isiraeri bye bawaayo okuba omugabo gwabwe n'empeera yaabwe olw'okuweereza kwe baweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu. N'okuva leero abaana ba Isiraeri tebaasembererenga Weema ya kusisinkanirangamu, balemenga okubaako ekibi ne bafa. Naye Abaleevi, be banaakolanga omulimu ogw'okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu, era be banaavunaanyizibwanga ebyayo ebinaabanga bisobye. Lino lye tteeka ery'olubeerera, erinaakolanga ne ku bazzukulu bammwe, nti Abaleevi tebabanga na ttaka lya nsikirano, Kubanga ebitundu eby'ekkumi eby'abaana ba Isiraeri, bye bawaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, bye mbawadde Abaleevi okuba obusika. Kyenvudde mbagamba nti Mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika.” Mukama n'agamba Musa nti, Era nate onooyogera n'Abaleevi n'obagamba nti, “Bwe munaasoloozanga ku baana ba Isiraeri ebitundu eby'ekkumi, bye mbawadde mmwe okuba obusika bwammwe, kale munaawangayo ku byo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, ekitundu eky'ekkumi eky'ebitundu ebyo eby'ekkumi. Era kye muwaayo ekisitulibwa kinaabalibwanga ng'omulimi ky'awaayo, eky'emmere ey'empeke, gy'aggye mu gguuliro, n'eky'omwenge ogw'emizabbibu gw'aggye mu ssogolero, bwe kimubalirwa. Bwe mutyo nammwe munaggyanga ku bitundu byammwe byonna eby'ekkumi abaana ba Isiraeri bye babawa, okuwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; era munaggyanga ku byo okuwa Alooni kabona ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa. Ku birabo byammwe byonna kwe munaggyanga buli ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa, ku ebyo byonna ebisinga obulungi, kye kitundu kyabyo ekitukuzibwa kye muggya ku byo. Kyonoova obagamba nti, ‘Bwe munaasitulanga ebisinga obulungi ku byo, kale binaabalibwanga eri Abaleevi ng'ekyengera eky'omu gguuliro, era ng'ekyengera eky'omu ssogolero. Era munaabiriiranga mu buli kifo, mmwe n'ennyumba zammwe; kubanga y'empeera yammwe olw'okuweereza kwammwe okw'omu Weema ey'okusisinkanirangamu. Temuubeenga na musango okubirya, kasita munaamalanga okuwa Mukama ebisinga obulungi ku byo. Naye mwekuumenga obutavumaganyanga bitone Abaisiraeri bye bawaayo, nga mubaako bye mulya nga temunnawaayo eri Mukama ekitundu ekyo ekisinga obulungi. Bwe munaabiryangako nga temumaze ku kiwaayo, temulirema kufa.’” Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama kye yalagira ng'agamba nti, Gamba abaana ba Isiraeri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko bbala, eteriiko bulema, era eteteekebwangako kikoligo. Munaagiwanga Eriyazaali kabona, naye anaagifulumyanga ebweru w'olusiisira, ne bagittira mu maaso ge. Awo Eriyazaali Kabona, anannyikanga engalo ye mu musaayi n'agumansira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu emirundi musanvu. Ente yonna: eddiba lyayo, n'ennyama, n'omusaayi, n'ebyenda byayo, binaayokebwanga mu maaso ga Eriyazaali kabona. Kabona n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu, n'abisuula wakati ente w'eyokerwa. Awo kabona anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe n'amazzi, n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye era kabona n'asigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'omuntu anaagyokyanga anaayozanga engoye ze mu mazzi, n'anaaba omubiri gwe n'amazzi, naye era n'asigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'omuntu omulongoofu anaayoolanga evvu ly'ente, n'alitereka ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, era linaakuumirwanga ekibiina ky'abaana ba Isiraeri okuba amazzi ag'okwawula: ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi. N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era lino linaabanga etteeka ery'olubeerera eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo.” “Omuntu yenna anaakomanga ku mulambo gw'omuntu, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu: Omuntu oyo aneerongoosanga n'amazzi ku lunaku olwokusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu, n'alyoka aba omulongoofu; naye bw'anaalemanga okwerongoosa ku lunaku olwokusatu, ne lunaku olw'omusanvu olwo taabenga mulongoofu. Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ayonoona ennyumba ya Mukama; omuntu oyo anaaboolebwanga mu Isiraeri. Anaabeeranga si mulongoofu kubanga teyamansirwako mazzi ag'okwetukuza. “Lino lye tteeka erikwata ku muntu afiira mu weema: buli muntu anaabanga mu weema omwo, n'oyo anaayingirangamu, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. Buli kintu kyonna ekiri mu weema eyo ekyasaamiridde, nga si kisaanikireko, kinaabanga ekitali kirongoofu. Na buli anaakomanga ku mulambo ogw'omuntu eyattirwa ku ttale n'ekitala, oba afudde yekka, oba ku ggumba ly'omuntu oyo, oba ku malaalo ge anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. “Okuggyawo obutali bulongoofu bw'omuntu oyo, banaatoolanga ku vvu ery'ekiweebwayo ky'ente eya lukunyu eyayokebwa olw'okutukuza, ne baliteeka mu kibya, ne baliyiwamu amazzi agaggyiddwa mu mugga ogukulukuta. Omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba, oba ku oyo eyattibwa, oba eyafa yekka, oba ku malaalo. Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu omuntu oyo omulongoofu anaamansiranga amazzi ag'okutukuza ku oyo atali mulongoofu. Oyo atali mulongoofu ku lunaku olw'omusanvu anaayozanga engoye ze n'anaaba n'amazzi n'alyoka abeera omulongoofu akawungeezi. “Omuntu atali mulongoofu bw'ateetukuza, asigala nga si mulongoofu, kubanga amazzi ag'okwetukuza gaba tegamumansiddwako. Era olw'obutaba mulongoofu, ayonoona awatukuvu wa Mukama, era anaaboolebwanga n'ava mu kibiina ky'abaana ba Isiraeri. Era lino linaabanga tteeka gyebali eritaliggwaawo: n'oyo anaamansiranga amazzi ag'okutukuza anaayozanga engoye ze; n'oyo anaakomanga ku mazzi ag'okutukuza anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Buli kintu atali mulongoofu ky'anaakomangako, kinaabanga ekitali kirongoofu; n'omuntu omulala yenna anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.” Awo ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri, ne batuuka mu ddungu lya Zini mu mwezi ogwolubereberye, ne batuula mu Kadesi; Miryamu n'afiira eyo era n'aziikibwa eyo. Ekibiina ne kibulwa amazzi, ne bakuŋŋaanira awali Musa ne Alooni. Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa naffe twafa baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama! Era mwaleetera ki ekibiina kya Mukama mu ddungu muno, ffe okufiira omwo, n'ebisibo byaffe? Era mwatuggira ki mu Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi, ekitaliimu ŋŋaano, omutali ttiini, omutali mizabbibu, so si kya mikomamawanga; wadde amazzi ag'okunywa?” Musa ne Alooni ne bava mu maaso g'ekibiina ne bagenda ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira. Mukama n'agamba Musa nti, “Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Alooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Bw'otyo bw'on'obaggyira amazzi mu lwazi onywese ekibiina ky'abantu n'ebisibo byabwe.” Musa n'addira omuggo ng'aguggya mu maaso ga Mukama, nga bwe yamulagira. Musa ne Alooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi, Musa n'abagamba nti, “Muwulire nno, mmwe abajeemu; tetuyinza ffe kubaggyira amazzi mu lwazi luno?” Musa n'ayimusa omukono gwe, n'akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri; ne muvaamu amazzi, abantu bonna ne banywa n'ebisibo byabwe. Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Olw'okubanga temuneesize okukola nga bwe nnabalagidde, okumpeesa ekitiibwa mu maaso g'abaana ba Isiraeri, kye muliva mulema okuyingiza ekibiina kino mu nsi gye mbawadde.” Ago ge mazzi ag'e Meriba; abaana ba Isiraeri gye beemulugunyiza Mukama, n'abalaga nga bw'ali omutukuvu. Musa n'atuma ababaka ng'ayima e Kadesi eri Kabaka w'e Edomu, n'amugamba nti, “Omanyi ennaku zonna ezatuuka ku Isiraeri muganda wo. Bajjajjaffe baagenda e Misiri, ne tubeera mu Misiri okumala emyaka mingi. Abamisiri ne babonyaabonya bajjajjaffe naffe. Awo bwe twakaabirira Mukama, n'awulira eddoboozi lyaffe, n'atuma malayika n'atuggya mu Misiri; era, laba, kaakano tuli mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n'ensi yo. Tukwegayiridde katuyite mu nsi yo; tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi; naye tulitambulira mu luguudo kabaka, lw'alitulagira. Tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tulimalira ddala okuyita mu nsi yo.” Edomu n'amugamba nti, “ Tojja kuyita mu nsi yaffe, bw'olikikola nja kubalwanyisa.” Abaana ba Isiraeri ne bamugamba nti, “Tuliyita mu luguudo mwokka; bwe tunaanywanga ku mazzi go, ffe n'ebisibo byaffe, kale tunagasasuliranga. Nkwegayiridde tukkirize tuyitemu buyisi n'ebigere.” N'agamba nti, “Toliyitamu.” Edomu n'amutabaala n'eggye eddene, n'eby'okulwanyisa eby'amaanyi. Bw'atyo Edomu n'agaana Isiraeri okuyita mu nsi ye, Isiraeri kyeyava akyuka n'akwata ekkubo eddala. Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Kadesi ne batambula ne batuuka ku lusozi Kooli. Mukama n'agamba Musa ne Alooni ku lusozi Kooli, oluli ku nsalo n'ensi ya Edomu, ng'ayogera nti, “Alooni ajja kufa agoberere bajjajjaabe. Taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isiraeri, kubanga mwajeemera ekigambo kyange ku mazzi ag'e Meriba. Kale twala Alooni ne Eriyazaali mutabani we, olinnye nabo ku lusozi Kooli. Alooni omwambulemu ebyambalo bye eby'obwakabona, obyambaze Eriyazaali mutabani we. Alooni anaafiira eyo n'agoberera bajjajjaabe.” Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. Ne balinnya ku lusozi Kooli ng'ekibiina kyonna kiraba. Musa n'ayambulamu Alooni ebyambalo bye, n'abyambaza Eriyazaali mutabani we. Alooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Musa ne Eriyazaali ne bakka okuva ku lusozi. Awo ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe kyamanya nga Alooni afudde, ne kimukungubagira okumala ennaku asatu (30). Kabaka Omukanani, ow'e Yaladi, ekiri mu bukiikaddyo, n'awulira nga Isiraeri ajjira mu kkubo ery'e Asalimu; n'alwana ne Isiraeri n'awamba abamu ku bo. Isiraeri ne yeeyama obweyamo eri Mukama, n'agamba nti, “Bw'onoogabulira ddala abantu bano mu mukono gwange, ndizikiririza ddala ebibuga byabwe.” Mukama n'awulira eddoboozi lya Isiraeri, n'agabula Abakanani mu mukono gw'Abaisiraeri. Abaisiraeri ne babazikiririza ddala, bo n'ebibuga byabwe. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma. Ne basitula okuva ku lusozi Kooli ne bagenda mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu, okwetooloola ensi ya Edomu. Abantu ne beetamwa nnyo olw'olugendo. Abantu ne beemulugunyiza Katonda ne Musa nga bagamba nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okutuleeta okufiira mu ddungu? Temuli mmere, so temuli mazzi; n'okwetamwa twetamiddwa eky'okulya kino ekyangu.” Mukama n'asindikira abantu emisota egy'obusagwa, ne gibabojja; Abantu bangi ku Baisiraeri ne bafa. Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti, “Twonoonye kubanga twemulugunyiza Mukama naawe; saba Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n'asabira abantu. Mukama n'agamba Musa nti, “Weekolere omusota ogw'ekikomo, oguteeke ku mulongooti; awo olunaatuuka, buli abojjeddwa bw'anagutunulako, anaawona.” Musa n'akola omusota ogw'ekikomo, n'aguteeka ku mulongooti, awo olwatuuka omusota bwe gwabanga gubozze omuntu yenna, bwe yatunuuliranga omusota ogw'ekikomo, ng'awona. Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu Obosi. Ne basitula e Obosi ne batambula ne basiisira mu Iyeabalimu, mu ddungu eryolekera Mowaabu, ku luuyi olw'ebuvanjuba. Ne bavaayo, ne batambula, ne basiisira mu kiwonvu kya Zeredi. Ne bavaayo ne batambula ne basiisira emitala w'omugga Alunoni, oguli mu ddungu, ogusibuka mu nsalo y'Abamoli; kubanga Alunoni ye nsalo wakati wa Mowaabu, n'Abamoli. Kyekyava kyogerwa mu Kitabo eky'Entalo za Mukama nti, “Wakebu ekya Sufa N'ebiwonvu bya Alunoni, N'ebikko eby'ebiwonvu Ebiserengetera eri ennyumba za Ali, Era ebyesigama ku nsalo ya Mowaabu.” Ne bavaayo ne batambula ne bagenda e Beeri; olwo lwe luzzi Mukama lwe yabuulirako Musa nti, “Kuŋŋaanya abantu, nange n'abawa amazzi.” Isiraeri n'alyoka ayimba oluyimba luno: “Weesere, ggwe oluzzi; muluyimbire; Oluzzi abakulu lwe baasima, Abakungu b'abantu lwe baayerula, N'omuggo ogw'obwakabaka, n'emiggo gyabwe.” Ne bava mu ddungu ne batambula ne bagenda e Matana: ne basitula e Matana ne bagenda e Nakalieri: ne basitula e Nakalieri ne bagenda e Bamosi: ne basitula e Bamosi ne bagenda mu kiwonvu ekiri ku ttale lya Mowaabu, ku ntikko ya Pisuga, kw'oyima okulengera eddungu. Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni, kabaka w'Abamoli ng'ayogera nti, “ Tukwegayiridde katuyite mu nsi yo; tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi; naye tulitambulira mu luguudo kabaka lw'alitulagira. Tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tulimalira ddala okuyita mu nsi yo. Sikoni n'ataganya Isiraeri kuyita mu nsi ye; naye n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna n'alumba Isiraeri mu ddungu, n'atuuka e Yakazi n'alwana nabo. Isiraeri n'alwana n'amaanyi n'amuwangula n'awamba ensi ye, okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku Yabboki, n'okutuusizza ddala ku baana ba Amoni; kubanga ensalo y'Abamoni yali ekuumibwa n'amaanyi. Isiraeri n'atwala ebibuga by'Abamoli byonna, omuli ne Kesuboni, n'obubuga bwonna obwali bukyetoolodde, ne babibeeramu. Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyali amaze okulwanyisa kabaka wa Mowaabu mu kusooka, n'amuwangula, n'awamba ensi ye yonna, okutuukira ddala ku Mugga Alunoni. Aboogerera mu ngero kyebaava boogera nti, “Mujje e Kesuboni, Ekibuga kya Sikoni kizimbibwe, kinywezebwe: Kubanga omuliro gufulumye mu Kesuboni, Ennimi z'omuliro mu kibuga kya Sikoni: Gwokezza Ali ekya Mowaabu, Abakungu ab'ebifo ebigulumivu ebya Alunoni. Zikusanze, Mowaabu! Mufudde, mmwe abantu ba Kemosi: Agabudde batabani be okuba abadduse, Ne bawala be okuba abasibe, Eri Sikoni kabaka w'Abamoli. Twabasimbako; Kesuboni kyazikirira okutuuka ku Diboni, Era twazisa okutuuka ku Nofa, Ekituuka ku Medeba.” Isiraeri n'atuula bw'atyo mu nsi y'Abamoli. Musa n'atuma okuketta ekibuga Yazeri, n'obubuga obwali bukyetoolodde ne babiwamba, ne bagobamu Abamoli abaalimu. Abaisiraeri ne bakyuka ne bambukira mu kkubo ly'e Basani; Ogi kabaka w'e Basani n'abalumba n'eggye lye lyonna n'abalwanyisiza e Derei. Mukama n'agamba Musa nti, “Tomutya, kubanga mmugabudde mu mukono gwo, n'abantu be bonna, n'ensi ye; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga e Kesuboni.” Awo ne batta Ogi ne batabani be, n'abantu be bonna, ne watasigalawo n'omu, ne batwala ensi ye. Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu, emitala wa Yoludaani okwolekera Yeriko. Awo Balaki, mutabani wa Zipoli, yali awulidde byonna Isiraeri bye yali akoze Abamoli. Mowaabu n'atya nnyo abantu, kubanga bangi; n'atekemuka olw'abaana ba Isiraeri. Mowaabu n'agamba abakadde ba Midiyaani nti, “Kaakano ogubinja guno gujja kusaanyaawo byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'erya n'esaanyawo omuddo ogw'oku ttale.” Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu biro ebyo. Awo n'atuma ababaka eri Balamu, mutabani wa Byoli, e Pesoli, ekiri ku lubalama lw'Omugga Fulaati, mu nsi ya Amawu, okumuyita ng'ayogera nti, “Laba, waliwo abantu abaava mu Misiri, ababuutikidde ensi, era batudde okunjolekera; mbekengedde nange bayinza okunnumba. Kale kaakano, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano, kubanga bansinga amaanyi. Olwo mpozzi tunaasobola okubawangula, ne mbagoba mu nsi eno, kubanga mmanyi nga ggwe, omuntu gw'osabira omukisa, agufuna, era nga buli gw'okolimira, akolimirwa.” Awo abakulembeze ba Mowaabu n'aba Midiyaani ne bagenda eri Balamu, nga batutte kye banaamusasula olw'okukolima. Bwe baatuuka gy'ali, ne bamutegeeza ebyo Balaki bye yabatuma. N'abagamba nti, “Musule wano ekiro kino, nange enkya nnabaddiza ebigambo Mukama by'anaŋŋamba.” Abakulembeze ba Mowaabu ne basula ewa Balamu. Ekiro ekyo Katonda n'ajja eri Balamu n'amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” Balamu n'addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, yantumira ng'ayogera nti, ‘Laba, abantu abaava mu Misiri babuutikidde ensi. Jjangu nno, obankolimirire; mpozzi ndiyinza okulwana nabo, ne mbagoba.’ ” Katonda n'agamba Balamu nti, “Togenda nabo; tokolimira bantu abo, kubanga baweereddwa omukisa.” Balamu n'agolokoka enkya, n'agamba abakulu ba Balaki nti, “Muddeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama agaanyi okunzikiriza okugenda nammwe.” Abakulembeze ba Mowaabu ne bagolokoka, ne baddayo eri Balaki, ne bamugamba nti, “Balamu agaanyi okujja naffe.” Balaki ne yeeyongera nate okutuma abakulembeze, abaasinga abo obungi era abaabasinga n'ekitiibwa. Ne bagenda eri Balamu ne bamugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, waleme okubaawo ekintu kyonna, ekikuziyiza okujja gye ndi; kubanga ndikukuza n'obeera n'ekitiibwa kinene nnyo, na buli ky'oliŋŋamba ndikikola. Kale, nkwegayiridde, jjangu onkolimirire abantu bano.’ ” Balamu n'addamu n'agamba abaddu ba Balaki nti, “Balaki ne bweyalimpadde ennyumba ye ng'ejjudde effeeza ne zaabu, siyinza kuva ku kigambo kya Mukama Katonda wange, okukikendeezaako oba okukyongerako. Kale nno, mbeegayiridde, nammwe musule wano ekiro kino, mmale okumanya Mukama ky'aneeyongera okuntegeeza.” Katonda n'ajja eri Balamu ekiro ekyo, n'amugamba nti, “Abantu abo nga bwe bazze okukuyita, golokoka ogende nabo; naye ekigambo kyokka kye nnaakugamba ky'ojja okukola.” Balamu n'agolokoka enkya n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'agenda n'abakulembeze ba Mowaabu. Obusungu bwa Katonda ne bubuubuuka kubanga Balamu yagenda. Awo Balamu bwe yali nga yeebagadde endogoyi ye, nga n'abaddu be babiri bali naye, Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Endogoyi, bwe yalaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo ng'akutte ekitala ekisowoddwa n'eva mu kkubo n'edda ku nsiko. Balamu n'akuba endogoyi okugizza mu kkubo eriyita mu kiwonvu, we lifundira, eriyita wakati mu nsuku z'emizabbibu nga ebbali n'ebbali eriyo ekisenge. Era Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo we lifundira, eriyita mu kiwonvu, wakati mu nsuku ez'emizabbibu, eziriko enkomera ez'ebisenge eruuyi n'eruuyi. Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, ne yeenyigiriza ku kisenge ky'olukomera, n'ebetentera ekigere kya Balamu ku kisenge; n'agikuba nate. Malayika wa Mukama ne yeeyongera okusembera mu maaso, n'ayimirira mu kifo eky'akanyigo ennyo, awatali bwe kyusizo ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono. Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama, n'egalamira wansi nga Balamu agituddeko. Obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n'akuba nnyo endogoyi n'omuggo gwe. Mukama n'ayasamya akamwa k'endogoyi, n'egamba Balamu nti, “Nkukoze ki ggwe okunkuba emirundi gino gyonsatule?” Balamu n'agamba endogoyi nti, “Kubanga onnyoomye; singa mbadde n'ekitala mu ngalo zange, kaakano nandikusse.” Endogoyi n'egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo, gye weebagalako obulamu bwo bwonna okutuusa leero? Nali nkuyisizzaako bwe nti?” Balamu n'addamu nti, “Nedda.” Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze. Balamu n'akutama, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise. Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti, “Okubidde ki endogoyi yo emirundi gino gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza, kubanga sikukkirizza kutambula lugendo luno. Endogoyi yo bw'endabye ne n'ebalama emirundi gino gyonsatule; singa tenneebalamye, nnandibadde nkusse ggwe, yo ne ngiwonya.” Balamu n'agamba malayika wa Mukama nti, “Nnyonoonye; kubanga saategedde ng'oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Nga bwe kikunyiizizza ka nkyuke nzireyo.” Malayika wa Mukama n'agamba Balamu nti, “Genda n'abantu abo; naye ekigambo kye nnaakugamba kyokka ky'onooyogera.” Awo Balamu n'agenda n'abakulembeze ba Balaki. Awo Balaki bwe yawulira nga Balamu azze, n'agenda okumusisinkana mu Kibuga kya Mowaabu, ekiri ku lubalama lw'omugga. Balaki n'agamba Balamu nti, “Lwaki tewajja bwe nnakutumira abantu okukuyita ku mulundi ogwasooka? Walowooza nti siyinziza ddala kukukuza n'oba waakitiibwa?” Balamu n'agamba Balaki nti, “Kaakati nzize gy'oli; naye sirina buyinza kwogera kigambo kyonna, wabula ekigambo Katonda ky'anateeka mu kamwa kange, ekyo kye naayogera.” Awo Balamu n'agenda ne Balaki; ne batuuka mu kibuga Kiriasikuzosi. Balaki n'asaddaaka ente n'endiga, n'atumira Balamu n'abakulembeze abaali naye. Enkeera, Balaki n'atwala Balamu, n'amulinnyisa ku bifo ebigulumivu ebya Baali, n'ayima eyo okulengera ekibiina ekinene eky'abaana ba Isiraeri. Balamu n'agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu.” Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera; Balaki ne Balamu ne baweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume. Balamu n'agamba Balaki nti, “Yimirira awali ekiweebwayo ekyokebwa ky'owaayo, nange ŋŋende; mpozzi Mukama anajja okunsisinkana; era buli ky'anaŋŋamba kye nnaakubuulira. N'agenda yekka ku ntikko y'olusozi.” Katonda n'asisinkana ne Balamu. Balamu n'amugamba nti, “Ntegese ebyoto omusanvu, era mpaddeyo ente n'endiga ennume ku buli kyoto.” Mukama n'ategeeza Balamu by'anaayogera, n'amugamba nti, “ Kati ddayo eri Balaki, oyogera bw'otyo.” N'addayo eri Balaki n'amusanga ng'ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, ng'ali wamu n'abakulembeze bonna Abamowaabu. Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Balaki, kabaka wa Mowaabu, Yanzija mu Alamu, mu nsozi z'ebuvanjuba N'aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimirire aba Yakobo, Jjangu osoomoze Abaisiraeri.’ Naakolimira ntya oyo Katonda gw'atakolimiranga? Naasoomoza ntya oyo Katonda gw'atasoomozanga? Kubanga nnyima ku ntikko y'amayinja okumulaba, Ne ku nsozi okumulengera: Abantu abo lye ggwanga eribeera lyokka, eriteebalira mu mawanga. Ani ayinza okubala abaana ba Yakobo abalinga enfuufu? Oba okubala kitundu ekyokuna ekya Isiraeri? Ka nfe ng'omutuukirivu bw'afa, N'enkomerero yange ebe ng'eyiye!” Balaki n'agamba Balamu nti, “Onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa.” Balamu n'agamba Balaki nti, “Tekiŋŋwanira kwogera ekyo Mukama ky'aŋŋambye okwogera?” Nate Balaki n'amugamba nti, “Nkwegayiridde jjangu tugende ffembi mu kifo ekirala, w'onooyinza okubalengerera. Onoolabako bamu, sso si bonna, osinziire eyo okubankolimirira.” N'amutwala mu ttale lya Zofimu, ku ntikko y'olusozi Pisuga, nayo n'azimbayo ebyoto musanvu, n'aweerayo ente n'endiga ennume ku buli kyoto. Balamu n'agamba Balaki nti, “Yimirira wano awali ekyokebwa ky'owaayo, nze ŋŋende eri nsisinkane Mukama.” Mukama n'asisinkana ne Balamu, n'amutegeeza eby'okwogera n'alyoka amugamba nti, “Ddayo eri Balaki oyogere bw'otyo.” Balamu n'akomawo eri Balaki we yali ayimiridde, awali ekyokebwa kye yawaayo, ng'ali wamu n'abakulembeze ba Mowaabu. Balaki n'abuuza Balamu nti, “Mukama agambye ki?” Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Golokoka, Balaki, owulire; Ntegera okutu, ggwe mutabani wa Zipoli: Katonda si muntu, okulimba; So si mwana wa muntu okukyusa ky'ayogedde: Ye ky'asuubiza akikola, Ky'ayogera akituukiriza. Laba, Katonda andagidde okuwa omukisa: Naye awadde omukisa, nange siyinza kugujjulula. Talabye butali butuukirivu ku Yakobo, So talabye bubambaavu ku Isiraeri: Mukama Katonda we ali naye, N'okwogera boogera nga bw'ali Kabaka waabwe. Katonda abaggya mu Misiri; Abalwanirira n'amaanyi nga ag'embogo. Tekisoboka okuloga abaana ba Yakobo, Wadde okulagula okukola akabi ku Isiraeri. Kaakano kinaayogerwanga ku baana ba Isiraeri, Nti Katonda ng'abakoledde! Laba, eggwanga lya Isiraeri liringa empologoma ey'amaanyi, Teriwummula, okutuusa nga limaze okutaagulataagula n'okulya omuyiggo gwalyo, Era n'okunywa omusaayi gwabo abattiddwa.” Awo Balaki n'agamba Balamu nti, “Nga bw'ogaanyi okubakolimira, kale nno leka n'okubasabira omukisa.” Naye Balamu n'addamu n'agamba Balaki nti, “Saakugamba nti byonna Mukama by'aliŋŋamba bye ndikola?” Balaki n'agamba Balamu nti, “Era jjangu nkutwale awalala; mpozzi Katonda anaasiima ggwe okuyima eyo okubankolimirira.” Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku ntikko y'olusozi Peoli, kw'osinziira okulengera eddungu. Era Balamu n'agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu.” Balaki n'akola nga Balamu bwe yamulagira, n'aweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume. Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, kumala kwebuuza nga bwe yakola okusooka, wabula n'ayolekeza amaaso ge eri eddungu. Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe biddiriraŋŋana. Omwoyo gwa Katonda ne gumujjako. Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja alaba obulungi ayogera; Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda, Ng'atunula n'alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna. Nti Eweema zo nga nnungi, ggwe Yakobo, Ennyumba zo, ggwe Isiraeri! Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu, Ng'ensuku eziri ku lubalama lw'omugga, Ng'emiti egy'omugavu Mukama gye yasimba, Ng'emiti emyerezi egiri ku lubalama lw'amazzi. Banaafunanga enkuba nnyingi, ne basiga ensigo zaabwe mu nnimiro ezifukiriddwa obulungi. Ne kabaka we anaasinganga Agagi ekitiibwa, N'obwakabaka bwe buliba bugazi Katonda eyabaggya mu Misiri; Abalwanirira n'amaanyi ng'embogo. Basaanyizaawo ddala abalabe baabwe, Era bamenyeramenyera ddala amagumba gaabwe, Bazikiriza n'obusaale bwabwe. Eggwanga lya Isiraeri liringa empologoma ey'amaanyi, Nga yeebase teri agyaŋŋanga okugizuukusa. Aweebwenga omukisa buli anaasabiranga Isiraeri omukisa, Era akolimirwenga buli anaakolimiranga Isiraeri.” Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo. Balaki n'agamba Balamu nti, “Nakuyita okukolimira abalabe bange, ate ggwe obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule. Kale kaakano ddayo ewammwe. Nali nkusuubizza okukukuza obe waakitiibwa nnyo, naye Mukama akuziyizza okuba n'ekitiibwa ekyo.” Balamu n'agamba Balaki nti, “Era nnagamba n'ababaka bo be wantumira nti, ne bwewalimpadde ennyumba yo ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, sandivudde ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nsinziira mu magezi gange nze. Mukama kye yaŋŋambye kye nkoze. Kaakano nzirayo mu bantu bange, naye nga sinnagenda jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola ku bantu bo mu biseera ebijja.” Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja alaba obulungi ayogera: Oyo awulira ebigambo bya Katonda ayogera. Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula n'ayolesebwa; Nti Mmulaba, naye si kaakano: Mmutunuulira, naye tandi kumpi: Mu Yakobo muliva emmunyeenye, N'omuggo ogw'obwakabaka guliva mu Isiraeri, Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu, Gulisaanyizaawo ddala abaana bonna aba Seezi. Isiraeri alikola eby'obuzira, Aliwangula Edomu ne Seyiri abaali abalabe be N'atuula mu butaka bwabwe. Era mu Yakobo muliva omufuzi, Alisaanyawo abalifikkawo mu kibuga.” Awo Balamu N'atunuulira Amaleki n'ayogera obunnabbi buno nti, “Okusooka Amaleki yali asinga amawanga gonna amaanyi, Naye ku nkomerero alisaanyizibwawo ddala;” Awo Balamu n'atunuulira Omukeeni, n'ayogera obunnabbi buno nti, “Ekifo kye mubeeramu kinywevu, Kiri ng'ekisu ekyekusifu ekyawanikibwa waggulu ku lwazi. Naye Abakeeni mulinyagibwa, Abasuuli balibawamba ne babatwala nga muli basibe.” Era Balamu n'ayogera ebigambo eby'obunnabbi nti, “Zitusanze! Katonda bw'alikola ekyo, ani alisigalawo nga mulamu Naye ebyombo biriva e Kittimu, Biribonereza Asuli ne Eberi, Era naye alizikirizibwa.” Awo Balamu n'asitula n'addayo ewaabwe, ne Balaki naye n'addayo ewuwe. Isiraeri n'abeera e Sitimu, abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu. Abamowaabu baayitanga aba Isiraeri okugenda ku mbaga ze bakoleranga ba katonda babwe; ne balya era ne bavunamira ba katonda baabwe. Isiraeri ne yeegatta ne Baali ow'e Pyoli; obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri. Mukama n'agamba Musa nti, “Twala abakulembeze b'abantu bonna obattire mu maaso gange emisana ttuku; ekiruyi kyange kiryoke kive ku Isiraeri.” Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti, “Buli muntu atte abasajja be abasinzizza Baali ow'e Pyoli.” Mu kaseera ako, omu ku Baisiraeri n'aleeta mu weema ye omukazi Omumidiyaani, nga Musa n'Abaisiraeri bonna balaba, bwe baali nga bakungubagira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona, bwe yakiraba n'agolokoka n'ava wakati mu kibiina, n'akwata effumu lye; n'agoberera omusajja Omuisiraeri n'omukazi Omumidiyaani mu weema gye baali, n'abafumita effumu ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo ku baana ba Isiraeri. N'abo abaafa kawumpuli baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Mukama n'agamba Musa nti, “Olw'ekyo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona, ky'akoze, akkakanyizza ekiruyi kyange ne sizikiriza baana ba Isiraeri. Kale nno mugambe nti nkola naye endagaano ey'emirembe; era eneebanga endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo, eri ye n'ezadde lye eririmuddirira, kubanga yakkakkanya ekiruyi kyange n'atangirira abaana ba Isiraeri.” Era omusajja Omuisiraeri eyattirwa, awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye yali Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'emu ku nnyumba ez'omu kika kya Simyoni. N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye yali Kozebi muwala wa Zuuli; eyali akulira abamu ku bakulu b'ennyumba mu bika bya Bamidiyaani. Mukama n'agamba Musa nti, “Lumba Abamidiyaani obatte, kubanga balabe bammwe. Baabaasalira enkwe ne babasenderasendera e Pyoli, ne musobya; n'olwa Kozebi, mwannyinaabwe, muwala w'omukulu wa Midiyaani, eyattirwa ku lunaku lwa kawumpuli e Pyoli.” Awo olwatuuka kawumpuli bwe yakoma, Mukama n'agamba Musa ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona nti, “Bala omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri.” Awo Musa ne Eriyazaali kabona, ne bagamba abakulembeze b'abantu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yoludaani, okwolekera Yeriko nti, “Mubale omuwendo gw'abantu bonna abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo; nga Mukama bwe yalagira Musa. Bano be baana ba Isiraeri abaava mu nsi y'e Misiri.” Mu kika kya Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, mwe muva enda zino: enda ey'Abakanoki okuva mu Kanoki, enda ey'Abapalu okuva mu Palu, enda ey'Abakezulooni okuva mu Kezulooni, n'enda ey'Abakalumi okuva mu Kalumi. Ezo z'enda eza baana ba Lewubeeni: n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu (43,730). Palu yazaala Eriyaabu; Eriyaabu n'azaala Nemweri, Dasani ne Abiramu. Dasani ne Abiramu be balondebwa ekibiina, ne begatta ku bagoberezi ba Koola, ne bawakanya Musa ne Alooni ne bajeemera Mukama. Ettaka ne lyasama ne libamira. Koola n'ekibiina ekyo bwe batyo bwe baafa mu biro ebyo, omuliro bwe gwayokya abasajja bibiri mu ataano (250), ne bafuuka akabonero akalabula. Naye batabani ba Koola bo tebaafa. Mu kika kya Simyoni mwe muva enda zino: enda ey'Abanemweri okuva mu Nemweri, enda ey'Abayamini okuva mu Yamini, enda ey'Abayakini okuva mu Yakini: enda ey'Abazeera okuva mu Zeera, enda ey'Abasawuli okuva mu Sawuli. Ezo z'enda ez'abaana ba Simyoni. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri (22,200). Mu kika kya Gaadi mwe mwava enda zino: enda y'Abazefoni okuva mu Zefoni, enda y'Abakagi okuva mu Kagi, enda y'Abasuni okuva mu Suni, enda ey'Abaozeni okuva mu Ozeni, enda ey'Abaeri okuva mu Eri. Enda ey'Abalodi okuva mu Alodi, enda ey'Abaleri okuva mu Aleri, Ezo ze nda eza batabani ba Gaadi. Bonna abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500). Mu kika kya Yuda mwe muva enda zino: Eri ne Onani abafiira mu nsi ya Kanani; enda ey'Abaseera okuva mu Seera, enda ey'Abapereezi okuva mu Pereezi, enda ey'Abazeera okuva mu Zeera. Pereezi yazaala Kezulooni mwe muva Abakezulooni, era n'azaala ne Kamuli, mwe muva Abakamuli. Ezo z'enda za baana ba Yuda. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo musanvu mu kakaaga mu bitaano (76,500). Mu lunnyiriri lwa Isakaali mwe muva enda zino: enda ey'Abatola abava mu Tola, enda ey'Abapuva abava mu Puva. Enda ey'Abayasubu okuva mu Yasubu: enda ey'Abasimuloni, okuva mu Simuloni. Ezo z'enda za baana ba Isakaali, n'abo abaabalibwa ku bo baali, emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu (64,300). Mu lunnyiriri lwa Zebbulooni mwe muva enda zino: enda eya Baseredi okuva mu Seredi, enda y'Abaeroni okuva mu Eroni, enda ey'Abayaleeri okuva mu Yaleeri. Ezo z'enda ez'abaana ba Bazebbulooni. Bonna abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu bitaano (60,500). Mu kika kya Yusufu mwe muva enda ya Manase ne Efulayimu. Manase yazaala Makiri, omuva enda ey'Abamakiri; Makiri yazaala Gireyaadi, omuva enda eya Bagireyaadi; Gireyaadi yazaala Yezeeri, omuva enda ey'Abayezeeri, yazaala ne Kereki omuva enda ey'Abakereki; yazaala ne Asuliyeri omuva enda ey'Abasuliyeri, yazaala ne Sekemu omuva enda ey'Abasekemu; yazaala Semida omuva enda ey'Abasemida; n'azaala Keferi omuva enda ey'Abakeferi. Ne Zerofekadi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala; amannya gabwe ge gano: Maala, Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza. Ezo z'enda za Manase. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700). Mu kika kya Efulayimu mwe muva enda zino: enda ey'Abasusera, okuva mu Susera, enda eya Babekeri okuva mu Bekeri, enda ey'Abatakani okuva mu Takani. Susera n'azaala Erani, omuva enda ey'Abaerani. Ezo ze nda za baana ba Efulayimu. Abaabalibwa ku bo baali, emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano (32,500). Abo be batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali. Mu kika kya Benyamini mwe muva enda zino: enda y'Ababera okuva mu Bera, enda ey'Abasuberi okuva mu Asuberi, enda y'Abakiramu okuva mu Akiramu; enda y'Abasufamu okuva mu Sufamu, n'enda y'Abakufamu okuva mu Kufamu. Bera yazaala Aluda omuva Abaluda, n'azaala ne Naamani omuva Abanaamani. Abo be baana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600). Mu kika kya Ddaani mwe muva enda y'Abasukamu okuva mu Sukamu. Bonna abaabalibwa ku bo baali emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bina (64,400). Mu kika kya Aseri mwe muva enda zino: enda y'Abaimuna okuva mu Imuna, enda y'Abaisuvi okuva mu Isuvi, Enda y'Ababeriya okuva mu Beriya. Beriya yazaala Keberi, omuva enda y'Abakeberi, n'azaala ne Malukiyeeri omuva enda y'Abamalukiyeeri. Aseri yazaala n'omuwala erinnya lye Seera. Ezo z'enda z'abaana ba Aseri. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400). Mu kika kya Nafutaali mwe muva enda zino: enda y'Abayazeeri okuva mu Yazeeri, enda y'Abaguni okuva mu Guni; enda y'Abayezeeri okuva mu Yezeeri; enda ya Basiremu okuva mu Siremu. Ezo z'enda za baana ba Nafutaali. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu bina (45,400). Bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri baali obusiriivu mukaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu (601,730). Mukama n'agamba Musa nti, “ Abo be baligabirwa ensi okuba obutaka bwabwe, okusinziira ku bungi bwabwe. Ekika ekirina abantu abangi, olikiwa ettaka ddene, n'ekika ekirina abantu abatono, olikiwa ettaka ttono. Buli kika kiriweebwa ettaka okuba obutaka bwakyo, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo abaabalibwa. Era ettaka lirigabibwa na bululu, ng'amannya g'ebika bya bajjajjaabwe bwe gali. Buli kika kiriweebwa ettaka lyakyo ery'ensikirano, nga likubirwa kalulu, era buli kika kirifuna ettaka okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo.” Ne bano be baabalibwa ku Baleevi ng'enda zaabwe bwe zaali: Abagerusoni okuva mu nda ya Gerusoni, Abakokasi okuva mu nda ya Kokasi, Abamerali okuva mu nda ya Merali. Zino z'enda ezaava mu Leevi: enda ey'Abalibuni, enda ey'Abakebbulooni, enda ey'Abamakuli, enda ey'Abamusi, n'enda ey'Abakoola. Kokasi yazaala Amulaamu. Muka Amulaamu yali ayitibwa Yokebedi, muwala wa Leevi. Yokebedi ye yazaalira Amulaamu Alooni, Musa, ne Miryamu mwannyinaabwe. Alooni ye kitaawe wa Nadabu, Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. Naye Nadabu ne Abiku baafa, bwe baawaayo omuliro Mukama gwatabalangiranga. Abasajja Abaleevi bonna abaabalibwa, okuva ku mwana ow'obulenzi ow'omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Bo tebaabalibwa wamu n'Abaisiraeri bannaabwe, kubanga Abaleevi tebaaweebwa ttaka lya nsikirano nga Abaisiraeri abalala. Abo be baana ba Isiraeri, Musa ne Eriyazaali kabona, be baabalira mu nsenyi z'e Mowaabu, ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. Mu abo abaabalibwa temwali n'omu ku bali abaasooka okubalibwa, Musa ne Alooni mu ddungu ly'e Sinaayi; kubanga Mukama yali aboogeddeko nti, “bonna bagenda kufiira mu ddungu, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.” Awo Maala, Noowa, Kogula, Mirika ne Tiruza, bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, abasibuka mu nda ya Manase mutabani wa Yusufu; ne bajja eri Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'abakulembeze, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu ne bagamba nti, “Kitaffe yafiira mu ddungu, nga tazadde baana ba bulenzi. Teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanya ne beetaba ne Koola okuwakanya Mukama, wabula ye yafa lwa kibi kye ye. Lwaki erinnya lya kitaffe liggyibwawo okuva mu Isiraeri, lwakubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obutaka mu kika kya kitaffe.” Musa n'atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama. Mukama n'agamba Musa nti, “Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga; oteekwa okubawa obutaka mu kika kya kitaabwe, era basikire omugabo gwa kitaabwe. Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we anaasikiranga ebintu bye. Era bw'anaabanga talina mwana wa buwala, kale munaawanga baganda be obusika bwe. Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale obusika munaabuwanga baganda ba kitaawe. Era kitaawe bw'anaabanga talina baganda be, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda mu kika kye; Lino linaabanga etteeka Abaisiraeri lye banaakuumanga; nga Nze Mukama bwe nkulagidde ggwe Musa.’ ” Awo Mukama n'agamba Musa nti, “Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri. Kale bw'onoomala okugirengera, ofiire eyo nga muganda wo Alooni naye bwe yafa; kubanga mwajeemera ekigambo kyange e Kadesi, mu ddungu Zini, ekibiina ky'abaana ba Isiraeri bwe beemulugunya olw'obutaba na mazzi, ne mutampa kitiibwa.” Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini. Awo Musa n'asaba Mukama nti, “Mukama, Katonda, ensibuko y'obulamu, alonde omuntu omulala an'akulembera abantu be, anaabakumakumanga, baleme kuba ng'endiga ezitalina musumba.” Mukama n'agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo; omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'ekibiina kyonna; omuteekewo era omukuutire byateekwa okukola mu maaso gaabwe bonna. Era on'omuwa ku buyinza bwo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri kimugonderenga. Era onoomuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri kimuwulirenga. Anaagendanga eri Eriyazaali kabona, ne Eriyazaali anaamubuulizanga Mukama, era Mukama anaamwanukulaga okuyita mu Ulimu; bw'atyo Eriyazaali anaaluŋŋamyanga Yoswa, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri.” Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'atwala Yoswa n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna, n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yamulagira. Mukama n'agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti, ‘Ekirabo kyange eky'emmere, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi kye nsanyukira, munaakiwangayo mu kiseera kyakyo ekyalagirwa.’ ” Era onoobagamba nti, “Kino kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro kye munaawangayo eri Mukama: abaana b'endiga abalume abataliiko bulema, abawezezza omwaka gumu, buli lunaku babiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo. Omwana gw'endiga ogumu onooguwangayo enkya, n'ogwokubiri onooguwangayo akawungeezi; n'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, ekitabuddwamu ekitundu ekyokuna ekya ini ey'amafuta agasinga obulungi.” Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro ekitaliggwaawo, ekyalagirwa ku lusozi Sinaayi, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. N'ekiweebwayo eky'okunywa ekigendera ku mwana gw'endiga oguweebwayo enkya, kinaabanga kitundu kya kuna ekya ini. Ekiweebwayo ekyo kinaabanga kika, era onookifukanga mu watukuvu eri Mukama. Ne ku mwana gw'endiga ogwokubiri oguweebwayo akawungeezi, onoowangayo eky'okunywa kyakwo nga bwe kiragirwa. Bw'otyo bw'onoowangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi. “Ne ku Ssabbiiti munaawangayo endiga ento ennume ezitaliiko bulema, eziwezezza omwaka, bbiri; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta, wamu n'ekiweebwayo eky'okunywa kyakwo. Ekyo kye kiweebwayo ekya buli Ssabbiiti, ekyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'okunywa kyakwo.” “Era ku buli lunaku olusooka olwa buli mwezi, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, endiga ento musanvu ezitaliiko bulema eziwezezza omwaka; n'ebitundu eby'ekkumi bisatu ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta ku buli nte; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta ku buli ndiga; n'ekitundu ekirala eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta ku buli ndiga nto; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. N'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako bye bino: ku nte; ekitundu eky'ekkumi eky'evinnyo. Ku ndiga ennume, ekitundu eky'okusatu ekya ini; ku ndiga ento ekitundu ekyokuna ekya ini. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku olusooka olw'omwezi okumalako omwaka gwonna. Ku ebyo byonna on'ogattangako ekiweebwayo eri Mukama, embuzi ennume emu. “Era ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, olw'omwezi ogwolubereberye mu mwaka, wanaabangawo embaga ey'Okuyitako kwa Mukama. Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo, wanaabangawo embaga Ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, eginaaliibwanga okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olwolubereberye olw'embaga eyo wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Munaawangayo ekiweebwayo eky'okebwa n'omuliro eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu n'endiga ento ennume musanvu eziwezezza omwaka ezitaliiko bulema. Era munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu ku buli nte, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume; n'ekitundu ekirala eky'ekkumi ku buli ndiga ento omusanvu; n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira. Munaawangayo ebyo, ne mugattako ekiweebwayo eky'okebwa eky'enkya ekya buli lunaku. Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku, okumalako ennaku musanvu, eky'okulya eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama awamu n'eky'okunywa kyakwo. Ne ku lunaku olw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. “Ku lunaku olusooka olw'embaga ey'amakungula, emala ennaku omusanvu, kwe munaaweerangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama, wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna. Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, abaana b'endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka; n'ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ekigenderako ebitundu eby'ekkumi bisatu ku buli nte, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume; Era munaawangayo ekitundu ekirala eky'ekkumi ku buli ndiga ento omusanvu, n'embuzi ennume emu okubatangirira. Awamu n'ebyo, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. Mugenderere, mulabe ng'ebiweebwayo byonna tebiriiko bulema. “Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olusooka olw'omwezi, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna, lwe lunaku olw'okufuuyirako amakkondeere. Ku lunaku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema; n'ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta ebigenderako, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ku lw'endiga ennume, n'ekitundu eky'ekkumi kimu ku lwa buli ndiga ento omusanvu, n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira: Awamu n'ebyo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. “Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, era munaabonerezanga obulamu bwammwe, era temulukolerangako mulimu gwonna. Ku lunaku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema; n'ekiweebwayo eky'obutta obulungi ekitabuddwamu amafuta ekigenderako, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente ennume, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume; n'ekitundu ekirala eky'ekkumi ku lwa buli ndiga ento omusanvu; era munaawangayo embuzi ennume emu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era awamu n'ebyo, ekiweebwayo olw'ekibi eky'okutangirira, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako. “Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna, era munaakwatanga embaga eyo eri Mukama okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olusooka olw'embaga, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka kkumi na ssatu (13), endiga ennume bbiri, endiga ento eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema, kkumi na nnya (14); ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta ekigenderako, ebitundu eby'ekkumi bisatu ku lwa buli nte emu ku nte ekkumi n'essatu (13), ebitundu eby'ekkumi bibiri ku lwa buli ndiga emu, ku ndiga ennume ebbiri, n'ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli emu ku ndiga ento ekkumi n'ennya (14). Munaawangayo n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; awamu n'ebyo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. “Ku lunaku olwokubiri olw'embaga, munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri (12), endiga ennume bbiri, endiga ento ennume eziwezezza omwaka, era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14); n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako, ku lw'ente ennume ne ku lw'endiga enkulu ennume, ne ku lw'endiga ento ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri. Era munaawangayo n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, era awamu n'ebyo, ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako. “Ku lunaku olwokusatu olw'embaga, munaawangayo ente kkumi n'emu (11), endiga ennume bbiri, n'endiga ento ennume eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14); n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga, ng'etteeka bwe liri, n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era awamu n'ebyo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. “Ku lunaku olwokuna ente kkumi (10), endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana (14), abawezezza omwaka ogumu era abataliiko bulema; ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri; n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; awamu n'ebyo ekiweebwayo eky'okebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. “Ne ku lunaku olw'okutaano munaawangayo ente mwenda, endiga ennume bbiri, endiga ento eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14); n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga ng'etteeka bwe liri; n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; awamu n'ebyo, ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. “Ku lunaku olw'omukaaga munaawangayo ente munaana, endiga ennume bbiri, endiga ento ennume eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14), n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako, ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga ng'etteeka bwe liri; n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; awamu n'ebyo ekiweebwayo eky'okebwa ekya buli lunaku, ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako. “Ku lunaku olw'omusanvu munaawangayo ente musanvu, endiga ennume bbiri, endiga ento ennume ezitannaweza mwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14); n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga, ng'etteeka bwe liri; n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; era awamu n'ebyo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. “Ku lunaku olw'omunaana olw'embaga, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente emu, endiga ennume emu, endiga ento eziwezezza omwaka, era ezitaliiko bulema musanvu; ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako ku lw'ente, ku lw'endiga ennume, ne ku lw'endiga ento, ng'omuwendo gwazo bwegunaabanga, ng'etteeka bwe liri; n'embuzi ennume emu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, awamu n'ebyo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'obutta ekigenderako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. “Ebyo bye munaawangayo eri Mukama ku mbaga zammwe ezaalagirwa; ng'ogasseeko obweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku lwammwe okuba ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'obutta, n'ebiweebwayo eby'okunywa era n'ebiweebwayo olw'emirembe.” Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri nga byonna bwe byali Mukama bye yamulagira. Musa n'agamba abakulu b'ebika by'abaana ba Isiraeri nti, “Kino Mukama ky'alagidde. Omusajja bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, oba bw'anaalayiranga ekirayiro, taamenyengawo kirayiro kye, anaakolanga nga byonna bwe biri by'ayogedde. Omuwala akyali mu maka ga kitaawe bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama oba bw'anerayiriranga ekigambo kyonna, kitaawe n'awulira obweyamo n'okwerayirira okw'omuwala kw'akoze n'atabiwakanya; byonna muwala we bye yeeyamye ne bye yerayiridde binaabanga bikakase. Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'abiwulirirako; tewabangawo ku bweyamo bwe oba ku kirayiro kye ekikakata, era Mukama anaamusonyiwanga, kubanga kitaawe yamugaana. Omuwala bw'anaafumbirwanga nga alina kye yeeyama, oba kye yeerayirira nga ayanguyiriza; bba bw'anaakiwuliranga, n'atamugaana ku lunaku lw'akiwulirirako, obweyamo obwo oba ekirayiro kye kinaabanga kikakase. Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako; kale obweyamo bwe oba ekirayiro kye yalayirira mu kwanguyiriza, binajjulukukanga, era Mukama anaamusonyiwanga. Naye obweyamo bwa nnamwandu oba obw'oyo eyagobebwa bba na buli kye yalagaanya obulamu bwe, anaabituukirizanga. Era omukazi omufumbo bwaneeyamiranga obweyamo mu nnyumba ya bba, oba ekigambo kyonna, bba n'akiwulira, n'asirika, n'atamugaana; kale obweyamo bwe bwonna n'ekirayiro kye binaakakatanga. Naye bba bw'anaabigaananga ku lunaku lw'abiwulirirako, olwo byonna omukazi bye yeeyama ne bye yeerayirira tebikakatenga, kubanga bba yabigaana, era Mukama anaamusonyiwanga. Buli bweyamo na buli kwerayirira kwonna, bba ayinza okubikkiriza oba okubigaana. Naye bba bw'anaamusirikiriranga ennaku zonna, obweyamo bwe n'okwerayirira kwe binakakatanga, kubanga bba teyamugaana ku lunaku lwe yabiwulirirako. Naye bba bw'anaabigaananga ng'ate yabiwulira n'asirika, ye anaabeerangako omusango gwa mukazi we.” Ago ge mateeka Mukama ge yalagira Musa, wakati w'omusajja ne mukazi we, era wakati w'omuwala ne kitaawe. Mukama n'agamba Musa nti, “Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani olw'ebyo bye baakola abaana ba Isiraeri, oluvannyuma olyoke ofe.” Musa n'agamba abantu nti, “Mulonde abasajja mu mmwe, mubawe eby'okulwanyisa, balwanyise Abamidiyaani bababonereze olw'ekyo kye baakola Mukama. Mulonde mu buli kika kya Isiraeri abasajja lukumi (1,000), mubatume okutabaala.” Awo ne balonda mu nkumi n'enkumi z'Abaisiraeri, abasajja lukumi (1,000) okuva mu buli kika, ne baweza abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), nga balina eby'okulwanyisa. Musa n'abasindika okutabaala, nga bakulembeddwa Fenekansi, mutabani wa Eriyazaali kabona, eyagenda n'ebintu eby'omu watukuvu, n'amakondeere ag'okufuuwa. Ne balwana ne Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa; ne batta abasajja bonna. Mu abo abattibwa mu lutalo olwo, mwalimu ne bakabaka abataano Abamidiyaani bano: Evi, Lekemu, Zuuli, Kuula, ne Leeba. Era mwe battira ne Balamu mutabani wa Byoli. Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana baabwe abato; amagana g'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi, n'ebintu ebirala byonna. N'ebibuga byabwe byonna mu bifo mwe baasulanga, n'ensiisira zaabwe zonna, ne ba byokya omuliro. Ne batwala omunyago gwonna gwe baafuna, omwali abantu n'ensolo. Ne baleeta omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona, n'eri ekibiina eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu lusiisira, mu nsenyi z'e Mowaabu eziri ku Yoludaani, okwolekera Yeriko. Awo Musa ne Eriyazaali kabona, n'abakulu bonna ab'ekibiina ne bafuluma okusisinkana eggye lya Isiraeri ebweru w'olusiisira. Musa n'asunguwalira abakulu b'eggye abakulira enkumi n'abaami b'ebikumi, abaakomawo nga bava mu lutabaalo. Musa n'abagamba nti, “Abakazi bonna mubalese nga balamu? Mujjukire nga baali bakazi abo mu mitawaana gye Peoli, abaagoberera amagezi ga Balamu, ne basendasenda Abaisiraeri obutaba beesigwa eri Mukama, bw'atyo kawumpuli n'ajja mu bantu ba Mukama. Kale kaakano mutte buli mwana ow'obulenzi, era mutte buli mukazi eyali yeegasseeko n'omusajja. Naye abawala abakyali embeerera, temubatta, mubeesigalize. Era musigale ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli eyatta omuntu yenna, oba eyakoma ku mulambo; mmwe mwenna n'abawambe bammwe mwerongoose ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu. Era mutukuze buli kyambalo, na buli kintu eky'eddiba, n'ebintu ebirala byonna ebyakolebwa mu byoya by'embuzi, era n'ebintu byonna eby'emiti.” Eriyazaali kabona n'agamba abatabaazi nti, “Bino bye biragiro Mukama byawadde Musa: Zaabu, feeza, ekikomo, ebbaati n'ekyuma ekizito, buli kintu ekiyinza okugumira omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiryoka kiba ekirongoofu, naye era ne kitukuzibwa ne mu mazzi ag'okwetukuza. N'ebyo byonna ebitayinza kugumira muliro, munaabitukuza nga mubiyisa mu mazzi. Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.” Mukama n'agamba Musa nti, “Ggwe ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu, mubale omuwendo ogw'omunyago ogw'abantu era n'ensolo. Omunyago mugwawulemu ebitundu bibiri: ekitundu ekimu mukiwe abatabaazi abaatabaala, ekitundu ekirala mukiwe ekibiina ky'abantu abalala bonna abasigaddewo. Ku mugabo gw'abatabaazi abaatabaala, onoosoloolezaako Mukama omusolo: omuntu omu ku buli bawambe bitaano (500). Era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi ne ku ndiga. Omusolo ogwo guggye ku mugabo gwabwe, oguwe Eriyazaali kabona, okuba ekiweebwayo ekisitulibwa, ekya Mukama. Ku mugabo ogw'Abaisiraeri abataatabaala, onoosoloozaako omuntu omu, ku buli bawambe ataano, era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi, ku ndiga ne ku nsolo endala zonna; obiwe Abaleevi abalabirira Eweema ya Mukama.” Musa ne Eriyazaali kabona ne bakola nga Mukama bwe yabalagira Ebintu ebyasigalawo ku mugabo abatabaazi gwe baanyaga nga bamaze okuggyako omusolo gwa Mukama byali: endiga obusiriivu mukaaga mu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (675,000), ente emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000), endogoyi emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000), n'abawala embeerera emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000). Omugabo gw'abo abaatabaala gwali: endiga obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500), n'omusolo gwa Mukama ogwasoloozeebwa ku ndiga gwali endiga lukaaga mu nsanvu mu ttaano; (675) ku nte emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), omusolo gwa Mukama gwali ente nsanvu mu bbiri (72), ku ndogoyi emitwalo esatu mu bitaano (30,500), omusolo gwa Mukama, gwali nkaaga mu emu (61), ku bawala embeerera omutwalo gumu mu kakaaga (16,000), omusolo gwa Mukama gwali abawala asatu mu babiri (32). Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; n'awa Eriyazaali kabona, omusolo ogwo gwonna, nga kye kiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama. N'omugabo gw'ekibiina ky'abantu bonna Musa gweyayawulako gwali gwe nkanankana n'ogw'abatabaazi abaatabaala; endiga ez'abantu zaali obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500), ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), endogoyi zaali emitwalo esatu mu bitaano (30,500), n'abawala embeerera omutwalo gumu mu kakaaga (16,000). Ku mugabo ogwaweebwa abantu, Musa n'aggyako omuntu omu ku buli bantu ataano (50), n'ensolo emu ku buli nsolo ataano (50), nga Mukama bwe yamulagira, n'abiwa Abaleevi abaalabiriranga Eweema ya Mukama. Awo abakulembeze mu ggye ab'enkumi n'ab'ebikumi ne bajja eri Musa, ne bamugamba nti, “Ffe abaweereza bo tubaze abatabaazi be twakulembera, ne kutabulako n'omu. Kye tuvudde tuleeta ekirabo kya Mukama ku by'obuyonjo buli omu by'afunye: zaabu, emikuufu, emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama.” Musa ne Eriyazaali kabona, ne babaggyako ezaabu, n'eby'obuyonjo byonna ebiweese. Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baawaayo eri Mukama, yali eweza sekeri omutwalo gumu mu kakaaga mu lusanvu mu ataano (16,750). Abasajja abatabaazi baali beenyagidde ebintu, buli muntu ebibye. Musa ne Eriyazaali kabona, ne batwala ezaabu abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baaleeta, ne bagissa mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebeerenga ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama. Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo ddala. Awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi nga nnungi okulundiramu ensolo; ebika byombi, ne bigenda eri Musa ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu ne babagamba nti, “Atalisi, Diboni, Yazeri, Nimula, Kesuboni, Ereale, Sebamu, Nebo ne Beoni, ensi Mukama gye yawangula mu maaso g'ekibiina kya Isiraeri, nsi nnungi nnyo okulundiramu ensolo, ate naffe abaweereza bo tuli balunzi ba nsolo.” Ne boogera nti, “Tusaba tuweebwe ensi eno okuba obutaka bwaffe, tuleme kusomoka Yoludaani.” Musa n'addamu abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti, “Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga musigadde wano? Lwaki mwagala okuterebula baganda bammwe okubalemesa okusomoka okuyingira mu nsi Mukama gye yabawa? Ekyo ne bakitammwe kye baakola, bwe n'atuma abakessi okuva e Kadesubanea okugenda okuketta ensi. Kubanga bwe batuuka mu kiwonvu Esukoli ne baketta ensi; bwe badda Abaisiraeri ne baterebuka. Mukama n'abasunguwalira nnyo ku lunaku olwo, n'alayira ng'agamba nti, ‘Mazima tewaliba n'omu ku basajja abaava e Misiri awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, aliyingira mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo, kubanga tebaneesize, okuggyako Kalebu, mutabani wa Yefune Omukenizi, ne Yoswa mutabani wa Nuuni: kubanga abo baneesigidde ddala.’ Mukama n'alyoka abonereza abaana ba Isiraeri n'ababungeeseza mu ddungu okumala emyaka ana (40), okutuusa ab'ezadde eryo lyonna abaakola ebibi, lwe baggweerawo ddala. Nammwe, okufaanana bakitammwe, mwagala okukola ebibi, Mukama asunguwalire Isiraeri nate. Kubanga bwe munaamujeemera, anaabaleka nate omulundi ogwokubiri mu ddungu, nammwe munaaletera abantu bano bonna okuzikirizibwa.” Naye abaana ba Gaadi n'aba Lewubeeni ne baddamu Musa nti, “ Katusooke tuzimbire ensolo zaffe ebiraalo, n'abaana baffe abato ebibuga. Oluvannyuma ffe bennyini tunaakwata eby'okulwanyisa, netukulembera abaana ba Isiraeri, okutuusa lwe tulimala okubayingiza mu butaka bwabwe bo, naye abaana baffe abato basigale mu bibuga ebigumu, ebiriko enkomera, olw'okwerinda abantu ab'omu nsi eno. Tetulikomawo mu nnyumba zaffe, okutuusa abaana ba Isiraeri bwe balimala buli muntu okufuna obutaka bwe. Ffe tetulifuna mugabo emitala wa Yoludaani n'okweyongerayo, kubanga obusika obwaffe tumaze okubufuna eno emitala, ebuvanjuba wa Yoludaani.” Musa n'abagamba nti, “Bwe munaakola nga bwe mwogedde, ne mukwata eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama ne mugenda okutabaala, era buli alina eby'okulwanyisa bw'anasomoka Yoludaani mu maaso ga Mukama okutuusiza ddala Mukama lwaliwangula abalabe be; oluvannyuma ne mulyoka mukomawo, era temulibaako musango eri Mukama, n'eri Isiraeri, olwo ensi eno eneebanga obutaka gye muli mu maaso ga Mukama. Naye bwe mutaakole nga bwe mwogedde, nga mwonoonye Mukama era mutegeerere ddala ng'okwonoona kwammwe kulibayigga. Nga bwe mugambye mugende muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'ebiraalo olw'ensolo zammwe.” Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Mukama waffe, abaweereza bo banaakolanga bw'olagidde. Abaana baffe abato, bakazi baffe, embuzi zaffe, n'ensolo zaffe zonna binaabeera eyo mu bibuga eby'e Gireyaadi: Naye abaweereza bo banaasomoka, buli musajja nga akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama okutabaala, nga ggwe mukama waffe bw'oyogedde.” Awo Musa ebigambo ebyo eby'abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'abiragira Eriyazaali kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'ebika by'Abaisiraeri. Musa n'abagamba nti, “Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja ng'akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama, ne muwangula ensi; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka bwabwe. Naye bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte eby'okulwanyisa, obutaka bwabwe buliba wamu n'obwammwe mu nsi ya Kanani.” Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Nga Mukama bw'agambye abaddu bo, bwe tutyo bwe tunaakola. Tunaasomoka nga tukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama okuyingira mu nsi ya Kanani okulwana, naye obutaka bwaffe bulibeera eno ebuvanjuba bwa Yoludaani.” Musa n'awa abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, mutabani wa Yusufu, obwakabaka obwali obwa Sikoni, kabaka w'Abamoli, n'obwali obwakabaka bwa Ogi, kabaka w'e Basani, ensi n'ebibuga byamu nga bwe byali, n'ebitundu ebyetoolodde wo. Abaana ba Gaadi ne bazimba ebibuga ebiriko enkomera: Diboni, Atalosi, Aloweri; Aterosisofani, Yazeri ne Yogubeka; ne Besunimira ne Besukalaani; ne bazimba n'ebisibo by'endiga. Abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni, Ereale ne Kiriyasayimu; Nebo, ne Baalumyoni, nga bakyusizza amannya gaabyo. Ne bazimba ne Sibima. Ebibuga ebyo bye baazimba, ne babituuma amannya amalala. Abaana ba Makiri mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi, ne balwanyisa Abamoli abakirimu, bo ne batuula omwo. Musa n'awa Makiri mutabani wa Manase ensi eya Gireyaadi; n'abeera omwo. Yayiri mutabani wa Manase, n'agenda n'alumba ebimu ku byalo by'Abamoli n'abiyita Kavosuyayiri. Noba n'alumba Kenasi, n'ebyalo byakyo, n'akituuma Noba, ng'erinnya lye ye bwe lyali. Bino bye bifo Abaisiraeri bye baasiisiramu nga bali mu bibinja byabwe, bwe baava mu nsi y'e Misiri nga bakulemberwa Musa ne Alooni. Musa yawandiikanga, nga Mukama bwe yamulagira, ebifo bye baavangamu okweyongerayo mu lugendo lwabwe. Bino bye bifo bye baayitamu okuva mu kimu okutuuka mu kirala. Abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Lameseesi ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, olw'omwezi ogwolubereberye, lwe lunaku olwaddirira Okuyitako, abaana ba Isiraeri ne bavaayo n'omukono gwa Mukama ogw'amaanyi ng'Abamisiri bonna balaba. Abamisiri baali bakyaziika abaggulanda baabwe bonna, Mukama be yatta mu bo, n'alaga bw'ali ow'obuyiza okusinga bakatonda baabwe. Abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Lameseesi, ne basiisira e Sukkosi. Ne basitula okuva e Sukkosi, ne basiisira e Yesamu, ekiri ku mabbali g'eddungu. Ne basitula okuva e Yesamu ne badda emabega okutuuka e Pikakirosi, ekyolekera Baalizefoni; ne basiisira okwolekera Migudooli. Ne basitula okuva e Kakirosi, ne bayita wakati mu nnyanja ne bayingira mu ddungu; ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu ery'e Yesamu, ne basiisira e Maala. Ne basitula okuva e Maala ne batuuka e Erimu. Era mu Erimu waaliwo enzizi z'amazzi kkumi na bbiri (12), n'enkindu nsanvu (70); ne basiisira awo Ne basitula okuva e Erimu, ne basiisira ku Nnyanja Emmyufu. Ne basitula okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne basiisira mu ddungu Sini Ne basitula okuva mu ddungu Sini, ne basiisira e Dofuka. Ne basitula okuva e Dofuka, ne basiisira e Yalusi. Ne basitula e Yalusi, ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi bantu ge bayinza kunywa. Ne basitula okuva e Lefidimu, ne basiisira mu ddungu ly'e Sinaayi. Ne basitula okuva mu ddungu ly'e Sinaayi, ne basiisira e Kiberosukataava. Ne basitula okuva e Kiberosukataava, ne basiisira e Kazerosi. Ne basitula okuva e Kazerosi, ne basiisira e Lisuma. Ne basitula okuva e Lisuma, ne basiisira e Limoniperezi. Ne basitula okuva e Limoniperezi, ne basiisira e Libuna. Ne basitula okuva e Libuna, ne basiisira e Lisa. Ne basitula okuva e Lisa, ne basiisira e Kekerasa. Ne basitula okuva e Kekerasa, ne basiisira ku lusozi Seferi. Ne basitula okuva ku lusozi Seferi, ne basiisira e Kalada. Ne basitula okuva e Kalada, ne basiisira e Makerosi. Ne basitula okuva e Makerosi, ne basiisira e Takasi. Ne basitula okuva e Takasi, ne basiisira e Tera. Ne basitula okuva e Tera, ne basiisira e Misuka. Ne basitula okuva e Misuka, ne basiisira e Kasumona. Ne basitula okuva e Kasumona, ne basiisira e Moserosi. Ne basitula okuva e Moserosi, ne basiisira e Beneyakani. Ne basitula okuva e Beneyakani, ne basiisira e Kolukagidugada. Ne basitula okuva e Kolukagidugada, ne basiisira e Yotubasa. Ne basitula okuva e Yotubasa, ne basiisira e Yabulona. Ne basitula okuva e Yabulona, ne basiisira e Ezyonigeba. Ne basitula okuva e Ezyonigeba, ne basiisira mu ddungu lye Zini e Kadesi. Ne basitula okuva e Kadesi, ne basiisira ku lusozi Koola, oluliraanye ensi ya Edomu. Alooni kabona, n'alinnya ku lusozi Koola, nga Mukama bwe yalagira, n'afiira eyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'okutaano, ogw'omwaka ogw'ana (40), okuva Abaisiraeri lwe baava mu nsi y'e Misiri. Era Alooni yali awangadde emyaka kikumi mu abiri mu esatu (123), bwe yafiira ku lusozi Koola. Kabaka w'e Kanani eyabeeranga mu Yaladi, mu bukiikaddyo ddyo bw'ensi eyo Kanani, n'awulira nti Abaisiraeri bajja. Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona. Ne basitula okuva e Zalumona, ne basiisira e Punoni. Ne basitula okuva e Punoni, ne basiisira e Yobosi. Ne basitula okuva e Yobosi, ne basiisira e Iyeabalimu, ekiriraanye Mowaabu. Ne basitula okuva e Iyimu, ne basiisira e Dibonugadi. Ne basitula e Dibonugadi, ne basiisira e Yalumonudibulasaimu. Ne basitula okuva e Yalumonudibulasaimu, ne basiisira ku nsozi za Abalimu, ezoolekera Nebo. Ne basitula okuva ku nsozi ze Abalimu, ne basiisira mu nsenyi ze Mowaabu, ku Yoludaani okwolekera Yeriko. Ne basiisira ku Yoludaani, okuva e Besuyesimosi okutuuka e Yaberisitimu mu nsenyi z'e Mowaabu. Mukama n'agambira Musa mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yoludaani okwolekera Yeriko nti, “Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, ‘Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani, mugobangamu abantu bonna be mulisangamu, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe ebyole ku mayinja n'ebiweeseddwa, ne musaanyawo n'ebifo byabwe byonna mwe basinziza ba katonda baabwe. Mulyefuga ensi eyo, ne mugibeeramu, kubanga ngibawadde mmwe ebe yammwe. Muligigabana mu bika byammwe ne mu nnyumba za bajjajjammwe, nga mukuba kalulu, abangi nga mubawa ekitundu ky'ensi kinene, n'abatono ne mubawa kitono. Buli muntu akalulu we kalimuwa, we waliba awawe, ng'agabanira mu kika kye. Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulirekamu, balibafuukira ng'enfuufu mu maaso gammwe, n'amaggwa agabafumita mu mbiriizi, era banaabatawanyanga mu nsi eyo gye mulibeeramu. Awo olulituuka, nga bwe nnali ndowooza okubakola bo, bwe ntyo bwe ndibakola mmwe.’ ” Mukama n'agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanani, eyo y'ensi eriba obutaka bwammwe, ensalo zaayo zonna ziriba bwe ziti: ensalo yammwe ey'omu bukiikaddyo eriva ku ddungu ly'e Zini, n'eyita ku nsalo ya Edomu. Ebuvanjuba, ensalo yammwe eyo ey'ebukiikaddyo, eritandikira ku nkomerero y'Ennyanja ey'omunnyo. Ensalo yammwe erikyukira e bukiikaddyo okwolekera ekkubo eryambuka ku Akulabbimu, ne yeyongerayo n'etuuka e Zini, n'etuukira ddala e Kadesubanea, mu bukiikaddyo. Olwo erikyukira e Kazaladali ne yeyongerayo mu Yazimoni. Ensalo erikyuka okuva mu Yazimoni, n'eyolekera omugga gwa Misiri, n'ekoma ku Nnyanja Eyawakati.” “Ensalo yammwe ey'ebugwanjuba, eriba Ennyanja Eyawakati.” “Ensalo yammwe ey'ebukiikakkono eriva ku Nnyanja Eyawakati okwambukira ddala okutuuka ku lusozi Koola. Okuva ku lusozi Koola mulyeyongerayo okutuukira ddala w'oyingirira e Kamasi, era ensalo eryeyongerayo okutuuka ku Zedada. Okuva awo eryeyongerayo okutuuka e Zifuloni n'ekoma ku Kazalenaani; eyo y'eriba ensalo yammwe ey'obukiikakkono.” “Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba okuva e Kazalenaani okutuuka e Sefamu. Ensalo eyo eriva ku Sefamu n'ekka e Libula, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Yaini, n'ekkirira okutuuka ku lubalama olw'ebuvanjuba lw'ennyanja ey'e Kinneresi. Era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Ey'omunnyo. Eyo y'eriba ensi yammwe ng'ensalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna.” Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti, “Eyo ye nsi gye mulisikira nga mukuba obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekitundu, kubanga ekika ky'abaana ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekitundu ky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe. Ebika ebyo ebibiri n'ekitundu, byamala dda okuweebwa obutaka obwabyo emitala wa Yoludaani, ku ludda olw'ebuvanjuba, okwolekera Yeriko.” Mukama n'agamba Musa nti, “Gano ge mannya g'abasajja abaligabanyaamu ensi okuba obutaka: Eriyazaali kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. Era mulitwala omukulembeze omu okuva mu buli kika, okugabanyaamu ensi. Gano ge mannya g'abasajja: okuva mu kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefune; Okuva mu kika kya Simyoni, Semweri mutabani wa Ammikudi; Okuva mu kika kya Benyamini, Eridaadi mutabani wa Kisuloni; Okuva mu kika kya Ddaani, Buki mutabani wa Yoguli. Okuva mu baana ba Yusufu, mu kika kya Manase, Kanieri mutabani wa Efodi; Okuva mu kika kya Efulayimu, Kamweri mutabani wa Sifutani; Okuva mu kika kya Zebbulooni, Erizafani mutabani wa Palunaki. Okuva mu kika kya Isakaali, Palutieri mutabani wa Azani. Okuva mu kika kya Aseri, Akikuda mutabani wa Seromi. Okuva mu kika kya Nafutaali, Pedakeri mutabani wa Ammikudi.” Abo be basajja Mukama be yalagira okugabira abaana ba Isiraeri obutaka mu nsi ya Kanani. Mukama n'agambira Musa mu nsenyi z'e Mowaabu, okwolekera Yeriko nti, “Lagira abaana ba Isiraeri bawe Abaleevi ebibuga eby'okutuulamu nga babiggya ku butaka bwabwe, era obawe n'ettaka eryetoolodde ebibuga ebyo olw'okulundirako. Ebibuga ebyo binaabanga by'Abaleevi okutuulamu; n'ettaka linaabanga lyabwe okulundirangako amagana gaabwe ag'ente, n'ebisibo byabwe eby'endiga n'embuzi, n'ensolo zaabwe endala zonna.” “Ettaka eryetoolodde ebibuga lye muliwa Abaleevi, liriva ku bbugwe w'ekibuga, emikono lukumi (1,000) enjuyi zonna. Era muligera ebweru w'ekibuga ku luuyi olw'ebuvanjuba emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'obukiikaddyo emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'ebugwanjuba emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'obukiikakkono emikono enkumi bbiri (2,000), ekibuga nga kiri wakati. Eryo lye liriba ettaka” ery'okulundirangako, okwetooloola ebibuga byabwe. “Ebibuga mukaaga ku ebyo bye muliwa Abaleevi, biriba bibuga bya buddukiro, ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde. Ku ebyo, mulibongerako ebibuga ebirala ana mu bibiri (42). Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi biriba ebibuga ana mu munaana (48); n'ettaka ery'okulundirangako. Ebibuga bye muliggya ku butaka bw'Abaisiraeri okubigaba, abangi mulibaggyako bingi, n'abatono mulibaggyako bitono. Buli kika kiriwa Abaleevi ebibuga, okusinziira ku bungi bw'ebibuga bye kyagabana.” Mukama n'agamba Musa nti, “ Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani, mulyerondera ebibuga eby'obuddukiro; omunaddukiranga omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde. Ebibuga ebyo binaabanga bya kuddukiramu okuwona omuwoolezi w'eggwanga; omussi alemenga okuttibwa nga tannawozesebwa mu maaso g'ekibiina. Ebibuga bye muliwaayo okuba ebibuga eby'obuddukiro, biriba mukaaga. Muliwaayo ebibuga bisatu ebuvanjuba bwa Yoludaani, n'ebirala bisatu mu nsi y'e Kanani, bibenga bibuga bya buddukiro. Ebibuga ebyo omukaaga binaabanga buddukiro bwa Baisiraeri, n'omugenyi, ne mu nnaggwanga atuula mu bo. Buli anattanga omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga omwo.” “Naye oyo anaakubisanga omuntu ekyuma n'amutta, oyo nga mussi wa muntu, naye talemanga kuttibwa. Era bw'amukubanga ejjinja eriyinza okutta omuntu n'afa, oyo nga mussi wa muntu, talemanga kuttibwa. Era oyo anaakubanga omuntu n'ekintu eky'omuti, era omuntu oyo n'afa; akoze ekyo nga mussi, talemanga kuttibwa. Ow'oluganda olw'okumpi olw'omuntu attiddwa, yennyini ye anattanga omussi w'omuntu oyo w'anamusisinkananga wonna.” “Era oba nga yamufumita olw'okumukyawa, oba nga yamuteega n'amukasuukirira ekintu kyonna n'afa; oba yamukuba ekikonde olw'obulabe, n'amutta; oyo nga mussi wa muntu; ow'oluganda olw'okumpi olw'oyo attiddwa, talemanga kutta mussi oyo wonna w'anamusisinkananga.” “Naye oba nga yamufumita mangu awatali bulabe, oba yamukasuukirira ekintu kyonna nga tateeze, oba ejjinja lyonna eriyinza okutta omuntu, nga tamulabye, ne limugwako n'okufa n'afa, so nga tabangako mulabe we, era nga teyagenderera ku mukola bubi; kale ekibiina ky'abantu kinaasalangawo mu lujjudde, wakati w'oyo eyakuba, n'ow'oluganda olw'okumpi olw'omufu, nga bagoberera amateeka gano. Ekibiina ky'abantu kinejjeerezanga omussi w'omuntu, ne kimuwonya mu mukono gw'omuwoolezi w'eggwanga era kinaamuzzangayo mu kibuga kye eky'obuddukiro; era anaabeeranga omwo okutuusa kabona eyafukibwako amafuta amatukuvu ng'afudde. Naye omussi w'omuntu bw'anasukkanga ensalo ey'ekibuga kye eky'obuddukiro; omuwoolezi w'eggwanga n'amusanga ng'asusse ensalo y'ekibuga kye eky'obuddukiro, n'amutta, tabengako musango gwa musaayi; kubanga yalema okubeera mu kibuga kye eky'obuddukiro, okutuusa kabona omukulu ng'afudde, olwo alyoke addeyo mu nsi ey'obutaka bwe. Ago ge ganaabanga amateeka ge muneekuumanga mmwe, n'abalibaddirira bonna, buli we munaabeeranga. Buli anattanga omuntu yenna, anattibwanga olw'obujulizi bw'abajulirwa; naye omujulirwa omu taalumirizenga muntu yenna okuttibwa. Era temukkirizanga kununula bulamu bwa mussi wa muntu asaanidde okufa; talemanga kuttibwa. Era oyo eyaddukira mu kibuga eky'obuddukiro, temuumukkirizenga kubaako ky'asasula asobole okudda ewaabwe, nga kabona asinga obukulu tannafa. Bwe mulikola ekyo, muliba mwonoonye ensi gye mubeeramu, kubanga obussi bwonoona ensi. Tewali kiyinza kufunira nsi kisonyiwo olw'obussi obwakolebwa mu yo, okuggyako okutta oyo omussi. So temwonoonanga nsi gye mutuulamu, gye mbeeramu wakati; kubanga Nze Mukama mbeera wakati mu baana ba Isiraeri.” Awo abakulu b'ennyumba mu lulyo lw'abo abasibuka mu Gireyaadi, mutabani wa Makiri era muzzukulu wa Manase, omu ku batabani ba Yusufu, ne bajja eri Musa n'abakulembeze abalala Abaisiraeri; ne bagamba Musa nti, “ Ssebo, Mukama yakulagira okugabira Abaisiraeri ensi okuba obutaka bwabwe obw'ensikirano ng'okuba akalulu. Mukama era yakulagira, obutaka obw'ensikirano obwa muganda waffe Zerofekadi okubuwa bawala be. Bwe balifumbirwa abasajja ab'ebika ebirala eby'Abaisiraeri, obutaka bwabwe obw'ensikirano buliggyibwa ku butaka obw'ensikirano obwaweebwa bakitaffe, ne bugattibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ebika ebirala bye balifumbirwamu, ekyo ne kikendeeza ku butaka bwaffe obw'ensikirano. Omwaka ogwa jjubiri ogw'abaana ba Isiraeri bwe gulituuka, kale obutaka obw'ensikirano obwa bawala ba Zerofekadi buligattirwa ddala ku butaka obw'ensikirano obw'ekika mwe baliba bafumbiddwa, bwe butyo ne buggyibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ekika kyaffe.” Musa n'alagira abaana ba Isiraeri nga Mukama bwe yamugamba. N'agamba nti, “ Ab'ekika kya batabani ba Yusufu boogera bya nsonga. Kino kye kigambo Mukama ky'alagira ku bawala ba Zerofekadi nti, ‘Ba ddembe okufumbirwa gwe basiimye, kyokka bafumbirwe ba mu kika kya kitaabwe. Tewaabenga butaka bwa nsikirano mu baana ba Isiraeri obunaakyukanga okuggyibwa mu kika ekimu ne buzzibwa mu kirala. Buli mwana wa Isiraeri anaakuumanga obutaka obw'ensikirano obw'ekika kya kitaawe. Buli muwala anaafunanga obutaka obw'ensikirano mu kika eky'Abaisiraeri, anaafumbirwanga musajja wa mu kika ekyo, olwo abaana ba Isiraeri basobolenga okufuna ku butaka bwa kitaabwe. Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obunaakyukanga okuva mu kika ekimu okudda mu kirala. Buli kika eky'abaana ba Isiraeri kinaakuumanga obutaka bwakyo obw'ensikirano.’ ” Nga Mukama bwe yalagira Musa, bwe batyo bawala ba Zerofekadi bwe baakola. Maala, Tiruza, Kogula, Mirika, ne Noowa, bawala ba Zerofekadi, ne bafumbirwa batabani ba baganda bakitaabwe. Baafumbirwa ku nda za batabani ba Manase, mutabani wa Yusufu; obutaka bwabwe ne bubeeranga mu kika eky'enda ya kitaabwe. Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa abaana ba Isiraeri ng'ayita mu Musa, mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yoludaani, okwolekera Yeriko. Bino bye bigambo Musa bye yagamba Isiraeri yenna, nga bali mu ddungu Alaba, ku ludda olw'ebuvanjuba bw'omugga Yoludaani. Baali mu kiwonvu kyagwo okumpi ne Sufu, wakati wa Palani ku ludda olumu, ne Toferi, Labani, Kazerosi ne Dizakabu ku ludda olulala. Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu (11) okuva e Kolebu, okuyita mu nsi ya Seyiri ey'ensozi, okutuuka e Kadesubanea. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ana (40), mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu (11), ku lunaku olw'omwezi ogwolubereberye, Musa n'ategeeza abaana ba Isiraeri byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira. Bino byabaawo ng'amaze okuwangula Sikoni, kabaka w'Abamoli, eyabeeranga e Kesuboni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyabeeranga mu Asutaloosi, ekiri mu Ederei. Emitala w'omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatandikira okunnyonnyola amateeka gano, n'agamba nti, “Nga tuli ku lusozi Kolebu, Mukama Katonda waffe yayogera naffe ng'agamba nti, ‘Muludde nnyo ku lusozi luno. Musituke, mutambule, mugende mu nsi ey'ensozi ey'Amoli, ne mu bifo byonna ebiriraanyeewo, mu Alaba, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsi ey'olusenyi, ne mu bukiikaddyo, ne ku ttale ly'ennyanja, ensi y'Abakanani, ne Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati. Ensi yiiyo ngibalaze, muyingire mugirye, y'ensi Mukama gye yalayirira okuwa bajjajjammwe Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo ne bazzukulu baabwe.’ ” Musa n'agamba abantu nti, “Nange mu kiseera ekyo n'abagamba mmwe nti, ‘Sisobola kubakulembera nzekka. Mukama Katonda wammwe abaazizza, laba, leero muli ng'emmunyeenye ez'oku ggulu obungi. Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, abaaze emirundi lukumi (1,000) okusinga nga bwe muli kati, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza. Naye nze nzekka nsobola ntya okwetikka obuvunaanyizibwa obwenkanidde awo, obw'okubalabirira n'okutawulula ennyombo n'enkaayana zammwe?’ Ne mbagamba nti, ‘mulonde abasajja abagezi, abategeevu era abamanyifu mu bika byammwe, abo mbafuule abakulembeze bammwe.’ Ne munziramu nti, ‘Kirungi, tukole nga bw'ogambye.’ Kale ne nzirira abakulembeze abagezi era abamalirivu, ne mbafuula abakulembeze ab'enkumi, n'ebikumi, n'abataano, n'ab'amakumi, era n'abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.” “Era n'akuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti, ‘Muwulirizenga ensonga, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyonna, era n'egyo egya bannamawanga ababeera mu mmwe. Bwe munaasalanga emisango, temusalirizanga, munaawuliranga abato n'abakulu kyenkanyi; temutyanga maaso ga muntu, kubanga omusango gwa Katonda; era ensonga eneebalemanga mugireetenga gye ndi, nange nnaagiwuliranga.’ Era mu kiseera ekyo, nnabalagira byonna bye musaana okukola.” “Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba, mu kkubo eriyita mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea. Ne mbagamba nti, ‘Mutuuse mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, Mukama Katonda waffe gy'atuwa. Laba, Mukama Katonda wo atadde ensi mu maaso go; yambuka ogitwale ogituulemu nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba; totya so tokankana.’ ” “Mwenna ne mujja gye ndi ne mwogera nti, ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo nga bwe biri.’ ” “Ekigambo ekyo ne kinsanyusa nnyo; ne nnonda mu mmwe abantu kkumi na babiri (12), omuntu omu okuva mu buli kika; ne bagenda ne bambuka ku lusozi, ne batuuka mu kiwonvu ekya Esukoli, ne bakiketta. Ne banogayo ku bibala, ne babituleetera. Ne batubuulira nti, ‘Ensi Mukama Katonda waffe gy'atuwa, nnungi.’ “Naye mmwe ne mutakkiriza kugendayo, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe; ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, nga mugamba nti, ‘Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi ey'e Misiri, okutugabula mu mikono gy'Abamoli okutuzikiriza. Twambuka wa? Baganda baffe batumazeemu amaanyi era batutiisizza,’ nga boogera nti, ‘abantu baayo banene, bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo ebigulumivu ennyo; era twalabayo abaana ba Abanaki.’ ” “Awo ne ndyoka mbagamba nti, ‘Temubatya so temutekemuka Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga bwe mwalaba byonna bye yabakolera e Misiri; era ne mu ddungu mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe yabatuusa mu kifo kino.’ Naye newakubadde Mukama yabakolera ebyo byonna, temwamwesiga, eyabakulemberanga okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu. Yasinziiranga mu mpagi ey'omuliro ekiro, ne mu mpagi ey'ekire emisana, okubalaga ekkubo lye munaayitamu.” “Mukama n'awulira bye mwayogera, n'asunguwala, n'alayira ng'ayogera nti, ‘Mazima tewalibaawo n'omu ku bantu bano ab'emirembe gino emibi aliyingira mu nsi eyo ennungi, gye nneerayirira okuwa bajjajjaabwe; okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ndi muyingiza mu nsi gye yaketta, ye n'abaana be, kubanga yeesiga Mukama mu byonna.’ Nange Mukama n'ansunguwalira ku lwammwe, ng'ayogera nti, ‘Naawe toligiyingiramu. Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wo oyo ye aligiyingiramu; mugumye omwoyo; kubanga ye yaligigabira abaana ba Isiraeri.’ ” “Era abaana bammwe abo, abatannayawula kirungi na kibi, be mwagamba nti, ‘Balinyagibwa,’ be baliyingira mu nsi eyo. Naye mmwe mukyuke mutambule nga mudda mu ddungu, nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emmyufu.” “Naye ne muddamu ne muŋŋamba nti, ‘Tusobezza Mukama; ka twambuke tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli muntu n'akwata eby'okulwanyisa bye, ne mwambuka nga mulowooza nti kyangu okulwanira mu nsi ey'ensozi.” “Awo Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Bagambe nti temugenda so temulwana, kubanga Nze siri wamu nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ Awo ne njogera nammwe, naye ne mutawulira; nga mujjudde amalala, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mwambuka ku lusozi mulwane. Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba nga bataamye ng'enjuki, ne babagoba ne babakuba okuva e Seyiri okutuusa e Koluma. Ne mukomawo ne mukaabirira Mukama abayambe. Naye Mukama n'atabawuliriza era n'atabafaako. Kye mwava mutuula mu Kadesi okumala ennaku nnyingi.” “Awo ne tulyoka tukyuka, ne tutambula mu ddungu nga tukutte ekkubo eriraga ku nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba; ne tumala ennaku nnyingi nga twetooloorera mu nsi ey'ensozi ey'e Seyiri.” “Mukama n'ayogera nange nti, ‘Muludde nnyo ku lusozi luno; mukyuke mugende e bukiikakkono.’ Naawe lagira abantu ng'oyogera nti, ‘Mugenda kuyita mu nsalo ya baganda bammwe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, era bo balibatya; naye mwegendereze nnyo. Temuyomba nabo; kubanga sijja kubawa kafo konna ku nsi yaabwe; kubanga nnamala dda okuwa Esawu olusozi Seyiri okuba obutaka bwe. Munaawangayo nsimbi okugula emmere gye mulya n'amazzi ge munywa. “Mu myaka gino ana (40) Mukama Katonda wo abadde wamu naawe, akuwadde omukisa mu mirimu gyo gyonna ne mu kutambula kwo kwonna mu ddungu lino eddene, so tewabangawo kye weetaaga.” “Awo ne tutambula nga twebalama baganda baffe, abaana ba Esawu abatuula ku lusozi Seyiri, nga twebalama ekkubo lya Alaba okuva mu Erasi ne Eziyonigeba. Ne tukyuka ne tuyita mu kkubo ly'omu ddungu ly'e Mowaabu. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Tososonkereza Mowaabu so tobawakulako lutalo; kubanga sijja kukuwa butaka ku nsi yaabwe; kubanga nnamala dda okuwa abaana ba Lutti, Ali okuba obutaka bwabwe. ’ ” ( Edda Abemi be baatuulanga omwo, nga ggwanga kkulu, ddene era nga bawagguufu nga Abanaki bwe baali; era nabo nga bayitibwa Balefa, ng'Abanaki; naye Abamowaabu bo baabayitanga Bemi. Edda Abakooli be babeeranga ku Seyiri, naye abaana ba Esawu bwe bajja, ne babagobako, ne bazikiriza eggwanga lyabwe, ne basenga mu kifo kyabwe, okufaananira ddala ng'Abaisiraieri bwe baakola mu nsi Mukama gye yabawa okuba obutaka bwabwe). “Kale musituke musomoke akagga Zeredi. Awo ne tusomoka akagga Zeredi. Okuva lwe twava e Kadesubanea, okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi, gyali giweze emyaka asatu mu munaana (38). Abasajja abalwanyi bonna ab'omulembe ogwo, baali bafudde nga baweddewo mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira. Mukama yabalwanyisa okutuusa lwe yabazikiriza n'abamalirawo ddala mu lusiisira.” “Awo olwatuuka, abalwanyi bonna bwe baamala okufa ne baggwaawo, Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, ‘Leero onooyita mu Ali, ye nsalo ya Mowaabu; bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasosonkereza so tobawakulako lutalo kubanga sijja kukuwa butaka ku nsi yaabwe, kubanga nnamala dda okugiwa abaana ba Lutti okuba obutaka bwabwe.’ ” (Ensi eyo era eyitibwa ya Balefa. Abaleefa be baagibeerangamu edda. Naye Abammoni baabayitanga Bazamuzumu. Baali ggwanga kkulu, ddene, era nga bawagguufu ng'Abanaki bwe baali, naye Mukama n'abazikiriza, Abammoni ne balyoka basenga mu nsi eyo, ne badda mu kifo kyabwe. Mukama era bw'atyo bwe yakolera abaana ba Esawu ababeera ku Seyiri; bwe yazikiriza Abakooli, olwo abaana ba Esawu ne batuula mu nsi eyo, ne badda mu kifo kyabwe n'okutuusa leero). Era n'Abavi abaabeeranga mu byalo okutuukira ddala e Gaaza, Abakafutooli abaava e Kafutooli baabazikiriza, ne badda mu kifo kyabwe. “Musituke, mutambule, muyite mu kiwonvu kya Alunoni, Sikoni, Omwamoli, kabaka w'e Kesuboni, muwaddeyo awamu n'ensi ye mu mikono gyammwe, mumulwanyise mutwale ensi ye. Okuva leero ntadde entiisa yo n'ekitiibwa kyo ku mawanga agali wansi w'eggulu lyonna. Banaawuliranga ettutumu lyo ne batekemuka era ne beeraliikirira.” “Ne ntuma ababaka nga nsiiziira mu ddungu ery'e Kedemosi eri Sikoni, kabaka w'e Kesuboni, n'ebigambo eby'emirembe nga musaba nti, ‘Ka mpite mu nsi yo; nnaatambuliranga mu luguudo mwokka, sijja kukyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono. Emmere gye tunaalyanga n'amazzi ge tunanywanga tunaagulanga bigule na nsimbi; naye tukkirize tuyitemu; ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe banzikiriza; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani ne ŋŋenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.’ ” “Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'atatuganya kuyita mu nsi ye; kubanga Mukama Katonda wo yakakanyaza omutima gwe, n'ajeema alyoke amuweeyo mu mukono gwo nga bwe kiri leero. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Laba, ntandise okubawa Sikoni n'ensi ye; kale mugiwangule mugituulemu.’ Sikoni n'abantu be bonna ne basitula okutulumba okutulwanyisiza e Yakazi. Mukama Katonda waffe n'amutuwa mu mukono gwaffe ne tumutta, ye n'abaana be n'abantu be bonna. Ne tunyaga ebibuga bye byonna, ne tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato; obutalekaawo n'omu; ente zokka ze twetwalira ng'omunyago, wamu n'ebintu bye twanyaga mu bibuga ebyo. Mukama Katonda waffe yatuwa byonna mu mukono gwaffe, okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi. Tewali kibuga kyatulema olw'obugulumivu bwakyo. Naye tetwasemberera nsi y'abaana ba Amoni, n'olubalama lw'Omugga Yabboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, wadde ebifo ebirala byonna, Mukama Katonda waffe gye yatuziyiza okugenda.” “Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka w'e Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okutulwanyisiza mu Ederei. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Tomutya, kubanga muwaddeyo gy'oli, ye n'abantu be, wamu n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, abaatuulanga mu Kesuboni.’ ” “Awo Mukama Katonda waffe n'awaayo Ogi, Kabaka we Basani n'abantu be bonna mu mukono gwaffe, ne tubatta bonna ne watasigalawo n'omu. Ne tuwamba ebyali ebibuga bye byonna mu kiseera ekyo. Tewali kibuga na kimu kye tutaabawambako. Byonna awamu byali ebibuga nkaaga (60), eby'omu kitundu kyonna ekya Arugobu, ebyali obwakabaka bwa Ogi mu Basani. Ebyo byonna byali ebibuga ebyazimbibwako bbugwe omugulumivu nga birina enzigi n'ebisiba; okwo kw'ogatta n'ebibuga ebirala bingi nnyo ebitaaliko bbugwe. Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w'e Kesuboni, nga mu buli kibuga tuzikiririza ddala abasajja, n'abakazi, n'abaana abato. Naye ente zonna n'ebintu ebirala byonna bye twanyaga mu bibuga ne tubyetwalira ng'omunyago.” “Era mu biro ebyo ne tuwamba ensi ya bakabaka bombi ab'Abamoli ababeeranga emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni. Edda Kerumooni Abasidoni baakiyitanga Siriyooni, ate Abamoli bo bakiyitanga Seniri. Twawamba ekitundu kyonna eky'obwakabaka bwa Ogi mu Basani; ebibuga byonna eby'omu lusenyi, n'ebitundu byonna ebya Gireyaadi n'ebya Basani, okutuukira ddala e Saleka ne Edereyi.” “Ogi kabaka w'e Basani ye yekka eyali akyasigaddewo ku Balefa; n'essanduuko ey'amayinja mwe baamuziika obuwanvu bwayo bwali emikono mwenda n'obugazi emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.” “Mu biro ebyo ensi eyo ne tugiwangula ne tugituulamu. Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa ekitundu okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byamu. Ekitundu ky'ekika kya Manase ne nkiwa ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwali obwakabaka bwa Ogi, y'ensi yonna eya Alugobu, eyali eyitibwa ensi ya Balefa. Yayiri, mutabani wa Manase, n'atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi. Ebyalo ebyo byonna n'abituuma Basani, erinnya lye, era bimanyiddwa ng'ebyalo bya Yayiri n'okutuusa leero. Makiri ne mmuwa Gireyaadi. Ekika kya Lewubeeni n'ekika kya Gaadi ne mbiwa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ng'amakkati g'ekiwonvu ye nsalo mu bukiikaddyo, ate Omugga Yabboki nga ye nsalo n'Abamoni mu bukiikakkono. Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku mugga Yoludaani, okuva ku nnyanja Kinneresi mu bukiikakkono, okutuuka ku Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, n'okutuukira ddala wansi w'olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba.” “Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugituulamu; naye abasajja bonna abazira, nga bakutte eby'okulwanyisa, banaasomoka ne baganda baabwe abaana ba Isiraeri. Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe, mmanyi nga mulina ebisibo bingi, binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa. Muyambe baganda bammwe okutuusa lwe baliwangula ne bakkalira mu nsi Mukama gy'abawa emitala wa Yoludaani, olwo nammwe ne mulyoka mudda mu butaka bwammwe bwe nnabawa. ’ ” “Mu biro ebyo ne ndagira Yoswa ne mugamba nti, ‘Olabidde ddala n'amaaso go ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku bakabaka abo ababiri. Bw'atyo Mukama bw'ajja okukola ku buli bwakabaka bwe mugenda okulumba. Temubatyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye an'abalwaniriranga.’ ” “Mu biro ebyo ne nneegayirira Mukama nga njogera nti, ‘Ayi Mukama Katonda, olaze omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki omulala ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri? N'olw'ekyo, nkwegayiridde nzikiriza nsomoke ndabe ku nsi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni.’ Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Kikumale; toyogera nate nange ku kigambo ekyo. Kale linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n'obukiikakkono n'obukiikaddyo, n'ebuvanjuba, olabe n'amaaso go ensi eyo; kubanga tolisomoka mugga guno Yoludaani. Naye kuutira Yoswa omugumye, omuwe amaanyi kubanga ye alikulembera abantu bano okusomoka era ye, ye alibagabira ensi gy'onoolaba.’ ” “Awo ne tusigala mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli. “Kale kaakano, ggwe Isiraeri, wulira amateeka n'ebiragiro, bye mbayigiriza, okubikolanga; mulyoke mube balamu, muyingire mutuule mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy'abawa. Temwongeranga ku kigambo kye mbalagira, so temukisalangako, mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbalagira. Mmwe bennyini mwalaba Mukama Katonda kye yakola e Pyoli, bwe yazikiriza abantu abo abaali mu mmwe abaasinza Baali ow'e Pyoli. Naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu okutuusa leero. Laba, mbayigirizza amateeka n'ebiragiro, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mubikwatenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okutuulamu. Kale mubyekuumenga, mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe eri amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti, ‘Mazima eggwanga lino kkulu, be bantu ab'amagezi era abategeera.’ Kubanga ggwanga ki eririna katonda abali okumpi nga Mukama Katonda waffe bw'ali, buli lwe tumukoowoola? Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n'ebiragiro eby'ensonga ng'amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero? “Kyokka weegendereze, weekuume emmeeme yo, nyiikira oleme okwerabira ebyo byonna amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo; era bitegeezenga abaana bo ne bazzukulu bo; olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo wansi w'olusozi Kolebu; Mukama bwe yaŋŋamba nti, ‘Nkuŋŋaanyiza abantu, mbategeeze ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaamalanga nga balamu ku nsi, era bayigirizenga n'abaana baabwe.’ “Ne musembera ne muyimirira wansi w'olusozi; olwali lubikkiddwa ebire ebikwafu, eby'omukka omuddugavu, ne lwaka omuliro, ne gutumbiira mu bbanga. Mukama n'ayogera nammwe ng'ayima wakati mu muliro; naye mwawulira ddoboozi lya bigambo lyokka, naye temwalaba kifaananyi kyonna. N'ababuulira endagaano ye, gye yabalagira okukola, ge mateeka ekkumi; n'agawandiika ku bipande eby'amayinja bibiri. Mu biro ebyo Mukama n'andagira okubayigiriza amateeka n'ebiragiro, bye munaakolanga mu nsi gye mugenda okutuulamu. “Kale mwekuume nnyo; kubanga temwalaba kifaananyi kyonna ku lunaku Mukama lwe yayogera nammwe ku Kolebu ng'ayima wakati mu muliro; mwekuume muleme kwonoona nga mwekolera ekifaananyi ekyole eky'engeri yonna, eky'ekintu ekisajja oba ekikazi, eky'ensolo yonna ku nsi, eky'ekinyonyi eky'ebiwaawaatiro ekibuuka mu bbanga, oba eky'ekintu kyonna ekyewalula ku ttaka, wadde eky'ekyennyanja ekibeera wansi mu mazzi. “Toyimusanga amaaso mu ggulu n'olaba enjuba, omwezi n'emmunnyeenye eby'omuggulu, n'osendebwasendebwa okubisinza oba okubiweereza, kubanga Mukama Katonda wo ebyo yabiteerawo amawanga gonna agali ku nsi. Naye Mukama yabatwala, n'abaggya mu bulumi n'okubonyaabonyezebwa okungi mu Misiri, mulyoke mubeere abantu be abe nvuma nga bwe muli leero. Naye nze Mukama yansuguwalira ku lwammwe, n'alayira era n'anziyiza okusomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obutaka. Naye nze nja kufiira mu nsi muno, sijja kusomoka Yoludaani; naye mmwe mulisomoka, ne mutuula mu nsi eyo ennungi. Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe; temwekoleranga ekifaananyi ekyole eky'ekintu kyonna era eky'engeri yonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana. Kubanga Mukama Katonda wo wa buggya, gwe muliro ogwokya. “Ne bwe muliba nga mumaze ebbanga ggwanvu mu nsi eyo, nga muzadde abaana, era nga mulina n'abazzukulu, temugezanga ne mwonoona nga mwekolera ekifaananyi eky'engeri yonna. Ekyo kibi mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era kirimusunguwaza. Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, mulizikirira ne muggweerawo ddala mangu mu nsi gye muyingira okutuulamu, nga musomose omugga Yoludaani. Era Mukama alibasaasaanyiza mu mawanga, mulisigalawo batono mu bantu, eyo ewala Mukama gy'alibatwala. Eyo gye muliweerereza ba katonda abakolebwa n'emikono gy'abantu ab'emiti, n'amayinja, abatalaba, abatawulira, abatalya newakubadde okuwunyiriza. Naye nga muli eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wammwe, n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna munaamulabanga. Bw'onoolabanga ennaku, era ebyo byonna nga bikujjidde, ku nkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, n'owulira eddoboozi lye; kubanga Mukama Katonda wo wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira. “Kale mwetegereze ebyaliwo mu mirembe egy'edda, okuviira ddala emabega, Katonda bukya atonda bantu ku nsi. Mwetegereze ensi yonna. Ekintu ekikulu nga kino kyali kibaddewo, era waliwo eyali akiwuliddeko? Waali wabaddewo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuva wakati mu muliro nga ggwe bwe waliwulira, ne baba balamu? Waliwo Katonda yenna eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga eddala ng'akozesa obubonero, eby'amagero, entalo, n'engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa, n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera e Misiri nga mulaba? Ebyo Mukama yabibalaga mmwe, mulyoke mumanye nti ye, ye Katonda yekka, tewali mulala. Mmwe yabawuliza eddoboozi lye ng'asinziira mu ggulu, alyoke abayigirize. Ne ku nsi yabalaga omuliro gwe ogw'amaanyi, ne muwulira bye yayogerera wakati mu gwo. Olw'okwagala bajjajjammwe, ye yennyini yabalondamu mmwe bazzukulu baabwe, n'abaggya mu Misiri n'obuyinza bwe obungi. N'agoba mu maaso go amawanga agaakusinga obukulu n'amaanyi, n'akuyingiza ggwe, n'akuwa ensi yaabwe okuba obutaka bwo nga bwe kiri leero. Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi; tewali mulala. Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero olyoke olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era owangaale nnyo ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa emirembe gyonna.” Awo Musa n'alyoka ayawula ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba; omuntu anattanga munne mu butanwa, addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo, awone okuttibwa. Bezeri ekiri mu ddungu, mu lusenyi, okuba eky'Abalewubeeni; ne Lamosi ekiri mu Gireyaadi okuba eky'Abagaadi; ne Golani ekiri mu Basani okuba eky'Abamanase. Era gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g'abaana ba Isiraeri; na buno bwe bujulirwa n'amateeka n'ebiragiro, Musa bye yabuulira abaana ba Isiraeri bwe baava mu Misiri. Bwe baali emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi eyali eya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baali bava e Misiri; ne batuula mu nsi ye, wamu n'ensi ya Ogi eyali kabaka w'e Basani; bakabaka bombi ab'Abamoli, abaabeeranga emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba. Ekitundu kino, kiva ku kibuga Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu Alunoni okutuuka ku lusozi Sayuuni, oluyitibwa Kerumooni. Okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, okutuusa ku lusozi Sayuuni, olwo ye Kerumooni, ne kitwaliramu Alaba yonna emitala wa Yoludaani, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okutuukira ddala ku nnyanja Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, wansi w'olusozi Pisuga. Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti, “Wulira, ggwe Isiraeri, amateeka n'ebiragiro bye mbategeeza leero, mubiyige, mubikwatenga era mu bikolenga. Mukama Katonda waffe yalagaana endagaano naffe ku lusozi Kolebu. Mukama teyalagaana ndagaano eyo na bajjajjaffe bokka, naye era naffe ffenna abalamu abali wano leero. Mukama yayogera nammwe ng'asinziira ku lusozi, wakati mu muliro nga mulaba. Mu biro ebyo, nange nnayimirira wakati wa Mukama nammwe, okubategeeza ekigambo kya Mukama; kubanga mwali mutidde omuliro ne mutalinnya ku lusozi, Mukama bwe yayogera nti, ‘Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.’ ” “ ‘Tobanga na bakatonda balala we ndi.’ ” “ ‘Teweekoleranga kifaananyi kyole, eky'ekintu kyonna ekiri mu waggulu mu ggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w'ettaka: tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baana obubi bwa bajjajjaabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa; era asaasira abantu nkumi na nkumi abanjagala era, abeekuuma amateeka gange. ’ ” “ ‘Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talirema ku mussaako musango omuntu alayirira obwereere erinnya lye.’ ” “ ‘Okwatanga olunaku olwa Ssabbiiti okulutukuza, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira. Ennaku omukaaga okolanga n'omala emirimu gyo gyonna: naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe, newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga nga ggwe. Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa Ssabbiiti.’ ” “ ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira; ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.’ ” “ ‘Tottanga. So toyendanga. So tobbanga. So towaayirizanga muntu munno. So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno. ’ ” “Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'abimpa.” “Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera awamu n'abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakadde bammwe; ne mwogera nti, ‘Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro wakati. Leero tulabye nga kisoboka Katonda okwogera n'omuntu n'asigala nga mulamu. Kale kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza; bwe tunaddamu nate okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe tujja kufa. Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu? Ggwe sembera owulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaayogera; olyoke otubuulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaakubuulira; naffe tulibiwulira ne tubikola.’ Mukama n'awulira ebigambo bye mwayogera nange, n'aŋŋamba nti, ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye boogedde birungi. Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezadde lyabwe; bandibadde bulungi ennaku zonna! Genda obagambe nti muddeyo mu weema zammwe. Naye ggwe beera wano we ndi, nkubuulire ebiragiro byonna n'amateeka by'olibayigiriza, balyoke babikolenga mu nsi gye mbawa okubeeramu.’ Kale mwegenderezenga okukolanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira, temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono. Mutambulirenga mu kkubo lyokka Mukama Katonda wammwe ly'abalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mugenda okutuulamu.” “Kale gano ge mateeka n'ebiragiro, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi, gye mugenda okubeeramu nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani. Mmwe n'abaana bammwe era ne bazzukulu bammwe, mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa obulamu bwammwe bwonna. Mutuukirizenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye mbawa, mulyoke muwangaale ennaku nnyingi. Kale wulira, ggwe Isiraeri, bw'otuukanga mu nsi Mukama Katonda wo gye yasuubiza bajjajjaabo, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, okwatanga ebyo byonna bye yakulagira olyoke olabenga ebirungi era olyoke oyale nnyo.” “Wulira, ggwe Isiraeri; Mukama Katonda waffe ali omu. Onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna. Era ebigambo bino bye nkulagira tobyerabiranga; onoobikuuma mu mutima gwo, era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga. Era onoobisibanga ku mukono gwo era onoobyetimbanga mu kyenyi okuba akabonero ak'okubikujjukizanga. Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi z'ennyumba yo.” “Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa omuli ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba, n'ennyumba ezijjudde ebirungi byonna, by'otaateekamu, n'ebidiba by'otaasima, n'ensuku ez'emizabbibu n'emizeyituuni z'otaasimba, n'olya n'okkuta; kale weegendereze oleme okwerabira Mukama, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu. Otyanga Mukama Katonda wo; oyo gw'onooweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga. Temusinzanga bakatonda abalala ab'amawanga agabeetoolodde; kubanga Mukama Katonda wo, Katonda wa buggya, obusungu bwe buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza, n'akusaanyaawo.” “Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa. Munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n'ebyo bye yategeeza, n'amateeka ge, ge yakulagira. Bw'onookolanga ebiri mu maaso ga Mukama ebituufu era ebirungi, olyoke olabenga ebirungi era oyingire otuule mu nsi ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo. Ogobangamu abalabe bo bonna, nga Mukama bwe yayogera.” “Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti, ‘Ebyo Mukama Katonda waffe bye yabalaga, n'amateeka n'ebiragiro bitegeeza ki?’ N'olyoka ogamba omwana wo nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n'atuggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi; era Mukama n'akola obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, nga tulaba. n'atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajjaffe. Era Mukama n'atulagira okukwatanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano. Era kinaabanga kirungi gyetuli, okwegenderezanga n'okukolanga byonna Mukama Katonda waffe bye yatulagira, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira.’ ” Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogenda okubeeramu, n'agobamu amawanga mangi: Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omwamoli, n'Omukanani, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, amawanga musanvu agakusinga obukulu n'amaanyi; era Mukama Katonda wo bw'alibakuwa n'obawangula, n'obatta, obasaanyinzangawo ddala, tolagaananga nabo endagaano yonna, so tobalaganga kisa. Temufumbiriganwenga nabo, bawala bammwe temuubawenga batabani baabwe kubawasa, era ne bawala baabwe temuubawasizenga batabani bammwe. Kubanga bwe mulikikola, ab'amawanga ago balikyusa abaana bammwe ne babaggya ku Mukama, ne basinza bakatonda abalala, Mukama n'abasunguwalira mmwe, era n'abazikiriza mangu ago. Naye munaabakolanga bwe muti: munaamenyamenyanga ebyoto byabwe, munaabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro. Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali okusinga mawanga gonna agali mu nsi. Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna: naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira bajjajjammwe, Mukama kyeyava abanunula okuva mu mukono gwa Falaawo Kabaka wa Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, n'abaggyayo n'omukono ogw'amaanyi. Kale Tegeera nga Mukama Katonda wo ye Katonda yekka omwesigwa, akuuma endagaano ye era asaasira abo abamwagala era abeekuuma ebiragiro bye emirembe gyonna. Asasula abo abamukyawa n'ababonereza ng'abazikiriza. Kale weekuumenga amateeka n'ebiragiro ebyo bye nkulagira leero, okubikolanga. Bwe munassangayo omwoyo ku biragiro bino ne mubikwata era ne mubikola, Mukama Katonda wammwe anaatuukirizanga endagaano ye n'okusaasira bye yalayirira bajjajjammwe, era anaakwagalanga, anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: anaawanga omukisa ennimiro zammwe ne mufuna eŋŋaano, envinnyo, n'amafuta ag'emizeyituuni. Anaayazanga amagana go ag'ente, ag'embuzi n'agendiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe. Muliweebwa omukisa okusinga amawanga amalala gonna. Mu mmwe temuubeenga musajja oba mukazi mugumba, wadde ekisolo ekitazaala mu magana gammwe. Mukama anaakukuumanga eri endwadde zonna, taakussengako n'emu ku ndwadde embi ez'e Misiri z'omanyi; naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa. Muzikirizenga ab'amawanga gonna, Mukama Katonda wammwe g'anaagabulanga mu mikono gyammwe. Temuubakwatirwenga kisa. Temuusinzenga bakatonda baabwe, kubanga ekyo mmwe kiribafuukira omutego. Toyogeranga mu mutima gwo nti amawanga gano gansinga obungi; siyinza kubawangula. Tobatyanga. Ojjukiranga Mukama Katonda wo bye yakola Falaawo, ne Misiri yonna. Ojjukiranga ebibonyoobonyo, n'eby'amagero, n'omukono ogw'amaanyi, bye walaba; Mukama Katonda wo bye yakozesa okubanunula. Bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya. Era Mukama Katonda wo anaasindikanga ennumba mu bo, okutuusa lw'alizikiriza abo abaliba basigaddewo nga babeekwese mmwe. Tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe mukulu era wa ntiisa. Era Mukama Katonda wo anaagobanga amawanga agali mu mmwe kinnalimu; temubamalangawo mulundi gumu, ensolo ez'omu nsiko zireme okubasukkirirako obungi. Naye Mukama Katonda wo anaabawangayo mu mikono gyo, era anaabeeraliikirizanga nnyo, okutuusa lwe balizikirira. Era bakabaka baabwe anaabawangayo mu mukono gwo, n'obazikiriza ne beerabirwa mu nsi. Tewaabenga muntu anaayinzanga kukuziyiza kubazikiriza. Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro. Teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu abiriko, so tobyetwaliranga bireme kukufuukira mutego, kubanga bya mizizo eri Mukama Katonda wo. Toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe oleme kufuuka eyakolimirwa nga kyo, naye onokikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kintu ekyakolimirwa. “Ebiragiro byonna bye mbalagira leero munaabikwatanga ne mubikola, mulyoke mubeerenga abalamu, mwalenga, muyingire mutuule mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe. Era munajjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wammwe lwe yabatambuza mu ddungu emyaka ana (40), alyoke abatoowaze, abagezese, ategeere ebyali mu mitima gyammwe, oba nga munaakumanga ebiragiro bye oba nedda. N'abatoowaza n'abalumya enjala, n'abaliisa emmaanu gye mwali temumanyi wadde bajjajjammwe, alyoke abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula n'olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama. Ebyambalo byammwe tebyakaddiwako n'ebigere byammwe tebyazimbako emyaka gyonna ana. Era mutegeerenga mu mitima gyammwe nti ng'omuntu bw'akangavvula omwana we, ne Mukama Katonda wammwe bw'abakangavvula mmwe. Era muneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mutambulira mu makubo ge nga mumussaamu ekitiibwa. Kubanga Mukama Katonda wammwe abatwala mu nsi ennungi omuli amazzi ag'emigga, ag'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu nsozi ne mu biwonvu; ensi ey'eŋŋaano ne sayiri, n'emizabbibu n'emitiini n'emikomamawanga; ensi mwonooliiranga emmere nga teggwaawo, toobengako ky'obulwa omwo; enjazi zaayo zirimu ekyuma, ne mu nsozi zaayo muyinza okusimamu ekikomo. Era munaalyanga ne mukkuta, ne mwebaza Mukama Katonda wammwe olw'ensi ennungi gye yabakuwa.” “Mwekuumenga muleme okwerabira Mukama Katonda wammwe, obutagonderanga biragiro bye n'amateeka ge byembalagira leero: bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba ennyumba ennungi n'okutuula omwo; era ente zo n'embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga byaze, ne byonna by'olina nga byaze; kale omutima gwo gulemenga okufuna amalala ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu; eyabayisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota n'enjaba eby'obusagwa. Mu ddungu eryo ekkalu omutaali mazzi, yabaggyira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale; oyo eyabaliisizazanga emmaanu mu ddungu, bajjajjammwe gye batalyangako, alyoke abatoowaze, abagezese, era ku nkomerero alyoke abawe ebirungi era abakole bulungi. Temwogeranga mu mitima gyammwe nti, ‘Obuyinza bwaffe n'amaanyi g'emikono gyaffe bye bitufunidde obugagga buno.’ Naye munajjukiranga Mukama Katonda wammwe, kubanga oyo y'abawa obuyinza okufuna obugagga; alyoke atuukirize endagaano gye yalayirira ne bajjajjammwe nga bwe kiri leero. Awo olunaatuukanga, bwe muneerabiranga Mukama Katonda wammwe ne mugoberera bakatonda abalala ne mubaweereza, ne mubasinza, mbategeeza leero nga temulirema kuzikirira. Bwe muligaana okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, nammwe mulizikirira bwe mutyo ng'amawanga Mukama g'alizikiriza mu maaso gammwe.” “Muwulire, Mmwe abaana ba Isiraeri: Leero mugenda kusomoka Yoludaani, okuyingira okuwangula amawanga agabasinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo ebigulumivu ennyo; abantu abanene, abawanvu, abaana b'Anaki, be mumanyi, era be mwawulirako nga boogerwako nti, ‘Ani ayinza okubaŋŋaanga?’ Kale mumanye leero nga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya buli kintu; alibazikiriza, era alibamegga mu maaso gammwe; bwe mutyo bwe mulibagobamu, ne mubazikiriza mangu, nga Mukama bwe yabagamba Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubagoba mu maaso gammwe, temwogeranga mu mitima gyammwe nti, Tuwangudde ensi eno olw'obutuukirivu bwaffe; kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama ky'ava agagoba mu maaso go. Si lwa butuukirivu bwammwe so si lwa bugolokofu bwa mitima gyammwe, kyemuva muyingira okutwala ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago, Mukama Katonda wammwe kyava agagoba mu maaso gammwe, alyoke anyweze ekigambo kye yalayirira bajjajjammwe, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Kale mutegeere nga Mukama Katonda wammwe tabawa nsi eno nnungi kugitwala lwa butuukirivu bwammwe; kubanga muli ggwanga eririna emputtu.” “Mujjukire temwerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wammwe mu ddungu; kubanga okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino, mujeemera Mukama. Era ne ku lusozi Kolebu mwasunguwaza Mukama, n'abanyiigira, era katono abazikirize. Bwe nnalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, n'amalayo ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere so nga ssinywa mazzi. Mukama n'ampa ebipande bibiri eby'amayinja ye yennyini byeyawandiikako n'engalo ye; bye bigambo byonna bye yayogera nammwe ku lusozi ng'asinziira wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Awo olwatuuka ennaku ana (40) bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka ove wano, oserengete mangu; kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaananyi ekisaanuuse.’ Era Mukama ne yeeyongera n'aŋŋamba nti, ‘Ndabye eggwanga lino, era, laba, lye ggwanga eririna emputtu; ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe okuva ku nsi; naye ggwe ndikufuula eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.’ Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, nga lukyayaka omuliro, era n'ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi. Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; nga mwekoledde ennyana ensaanuuse, nga mumaze okukyama amangu ago okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira. Ne nkwata ebipande byombi ebyali mu mikono gyange, ne mbikasuka ku ttaka ne bimenyekeramenyekera mu maaso gammwe. Ne nvuunama mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, okumala ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere era nga ssinywa mazzi olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ebibi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza. Kubanga nnatya obusungu n'ekiruyi kya Mukama bwe yali ng'amaliridde okubazikiriza. Naye Mukama n'ampulira ne ku mulundi ogwo. Era Mukama n'asunguwalira nnyo Alooni n'ayagala okumuzikiriza; wabula ne musabira nnyo mu kiseera ekyo. Ne nzirira ekibi kyammwe, ye nnyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, ne ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafuuka ng'enfuufu; enfuufu eyo ne ndyoka ngiyiwa mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.” “Era n'e Tabera, n'e Masa, n'e Kiberosukataava nayo mwasunguwalizaayo Mukama. Era Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti, ‘Mwambuke mutwale ensi gye mbawadde;’ mwajeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye. Okuva ku lunaku lwe nnabamanya mubadde mujeemera Mukama.” “Awo ne nvuunama mu maaso ga Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; kubanga Mukama yali ayogedde nga bw'agenda okubazikiriza. Ne nsaba Mukama nga njogera nti, Ayi Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo era obusika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi. Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe; ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti, Kubanga Mukama teyasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era kubanga yabakyawa, kyeyava abatwala mu ddungu okubatta. Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggya mu Misiri n'obuyinza bwo obungi era n'omukono gwo ogw'amaanyi.” “Mu biro ebyo Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Bajja ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, olinnye gye ndi ku lusozi, era weekolere n'essanduuko ey'omuti. Nange nnaawandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye bye wamenya, era onoobiteeka mu ssanduuko.’ ” “Awo ne nkola essanduuko ey'omuti gwa sita, ne mbajja ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, ne nninnya ku lusozi, nga nkutte ebipande ebibiri mu ngalo zange. Mukama n'awandiika ku bipande amateeka ekkumi, ng'ebigambo bwe byali bye yababuulira olubereberye ku lusozi, ng'ayima wakati mu muliro, ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako. Mukama n'ampa ebipande ebyo. Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nnali nkoze; era biri omwo nga Mukama bwe yandagira.” ( Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera. Alooni n'afiira eyo, era gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'amusikira mu kuweereza okw'obwakabona. Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda; ne bava e Gudugoda ne batambula okutuuka e Yotubasa, ensi ey'ensulo ez'amazzi. Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama okumuweerezanga, n'okuwa abantu omukisa mu linnya lye. Egyo gy'emirimu gyabwe n'okutuusa leero. Ekika kya Leevi kye kiva kirema okuba n'omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda babwe; Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba). “Ne mmala ennaku ana (40) emisana n'ekiro ku lusozi, ng'omulundi ogwolubereberye; Mukama n'ampulira n'omulundi ogwo, n'atabazikiriza. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka, okulembere abantu obayingize mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe okubawa.’ ” “Kale kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wammwe byayagala mukole bye bino: Mutyenga Mukama Katonda wammwe, mutambulirenga mu biragiro bye byonna, mumwagalenga, era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna. Mwekuumenga ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge bye mbalagira leero, mulyoke mubeerenga bulungi. Laba, Mukama Katonda wammwe ye nnannyini ggulu, n'ensi ne byonna ebirimu. Mukama yayagala bwagazi bajjajjammwe, era nammwe bazzukulu baabwe kwe kubalonda okubaggya mu mawanga amalala gonna, era abaagala n'okutuusa kaakano. Kale mugonderenga Mukama Katonda wammwe, so temubanga ba mputtu. Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda omukulu asinga ba katonda abalala bonna; era Mukama w'abafuzi, ow'amaanyi, ow'entiisa, atasaliriza era atalya nguzi. Asala mu bwenkanya omusango gwa bamulekwa ne bannamwandu, era alabirira bannamawanga ng'abawa eby'okulya n'eby'okwambala. Kale nammwe mwagalenga bannamawanga; kubanga nammwe mwali bannamawanga mu nsi ey'e Misiri. Mutyenga Mukama Katonda wammwe; oyo gwe munaaweerezanga; era oyo gwe munegattanga naye, n'erinnya lye lye munaalayiranga. Oyo lye ttendo lyammwe, era ye Katonda wammwe, eyabakolera ebikulu era eby'entiisa, amaaso gammwe bye gaalaba. Bajjajjammwe baagenda e Misiri nga bali abantu nsanvu (70); naye kaakano Mukama Katonda wammwe abaazizza; muli ng'emmunnyenye ez'oku ggulu obungi.” Kale munaayagalanga Mukama Katonda wammwe, ne mwekuuma bye yabakuutira, amateeka ge n'ebiragiro bye ennaku zonna. Kale mumanye leero; soogera na baana bammwe abaatamanya era abataalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, wabula nammwe abalaba obukulu bwe n'amaanyi ge, n'omukono gwe ogwagololwa; n'obubonero bwe, n'emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri, n'eri Falaawo, kabaka w'e Misiri n'ensi ye yonna; era bye yakola eggye ery'e Misiri, bwe yasaanyawo embalaasi n'amagaali gaabwe; mu mazzi ag'ennyanya emmyufu, n'abazikiriza bonna bwe baali nga babawondera. Mumanyi byonna Mukama bye yabakolera mu ddungu, bwe mwali nga temunnatuuka mu kifo kino; mujjukira byeyakola Dasani ne Abiramu abaana ba Eriyaabu, bazzukulu ba Lewubeeni; ettaka bwe lyayatika ne lyasama, ne libamira bugobo; ab'omu maka gaabwe bonna, n'eweema zaabwe na buli kintu kyonna ekiramu kye baalina nga Abaisiraeri abalala bonna balaba. Era mwalabira ddala n'amaaso gammwe omulimu gwonna omukulu Mukama gwe yakola. Mwekuumenga ebiragiro byonna bye mbalagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, musomoke omugga guno Yoludaani muyingire mutwale ensi Mukama gy'abawa; era mulyoke muwangaale mu nsi, Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki. Kubanga ensi gye muyingiramu okutwala, tefaanana ng'ensi ey'e Misiri gye mwava, gye mwasigiranga ensigo ne mukola n'amaanyi, nga muzifukirira ng'ennimiro y'enva. Naye ensi gye muyingiramu okutwala nga mumaze okusomoka Yoludaani, nsi ya biwonvu n'ensozi efukirirwa enkuba. Ensi eyo Mukama Katonda wammwe agyagala; era amaaso ge gaba ku yo ennaku zonna, okuva ku ntandikwa y'omwaka okutuusa ku nkomerero yaagwo. Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna, anaatonnyesanga enkuba ku nsi yammwe mu ntuuko zaayo; enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, mukungulenga eŋŋaano, n'envinnyo n'amafuta okuva mu mizeyituuni. Era n'akuzanga omuddo mu ttale olw'ebisibo byammwe era nammwe munaalyanga ne mukkuta. Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okulimbibwa, ne mukyama, okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza; obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba netatonnya, n'ensi netabala bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi Mukama gy'abawa. Kale mutereke ebigambo byange ebyo mu mitima gyammwe ne mu bulamu bwammwe; era munaabisibanga ku mikono gyammwe era munaabyetimbanga mu byenyi byammwe okuba akabonero ak'okubibajjukizanga. Era munaabiyigirizanga abaana bammwe, nga mubinyumyako, bwe munaatuulanga mu nnyumba zammwe ne bwe munaabanga mutambula mu ŋŋendo zammwe, bwe munaabanga mugenda okwebaka, era ne bwe munaabanga mugolokose. Era munaabiwandiikanga ku myango gy'ennyumba zammwe ne ku nzigi zammwe. Ennaku zammwe n'ez'abaana bammwe zibeere nnyingi mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa emirembe gyonna. Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bino byonna bye mbalagira okukola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu biragiro bye byonna, n'okwegattanga naye; Mukama anaagobangamu amawanga gano gonna mu maaso gammwe, mmwe ne mutwala ensi z'amawanga ago agabasinga obunene n'amaanyi. Buli kifo kye munaalinnyangamu ebigere byammwe kinaabanga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Fulaati mu buvanjuba, okutuuka ku nnyanja Eyawakati mu bugwanjuba. Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba. “Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa. Munaabanga n'omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero. Naye munaakolimirwanga, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne musinzanga bakatonda abalala be mwali temumanyi. Awo olulituuka Mukama Katonda wammwe bw'alibayingiza mu nsi gye mugenda okutuulamu, mulangiriranga omukisa nga musinziira ku lusozi Gerizimu, n'ekikolimo nga musinziira ku lusozi Ebali. Ensozi ezo zombi ziri mitala wa mugga Yoludaani, mu nsi y'Abakanani ababeera mu kiwonvu kya Yoludaani okwolekera Gilugaali, ku mabbali g'emivule gya Mole. Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira mutwale ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, okubeeramu. Era munaanyiikiranga okukwata amateeka n'ebiragiro byonna bye mbalagira mmwe leero.” Gano ge mateeka n'ebiragiro bye munaakwatanga mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa okutuulamu, ennaku zonna ze mulimala nga muli balamu mu nsi. Temulemanga kuzikiriza bifo byonna eby'amawanga ge mugenda okuwangula gye baweerereza bakatonda baabwe, ebiri ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi. Munaamenyamenyanga ebyoto n'empagi zaabwe, era munaayokyanga n'ebifaananyi bya katonda waabwe Asera; munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; ne musangulira ddala amannya ga bakatonda abo, ne bataddamu ku sinzibwa mu bifo ebyo. Temusinzanga Mukama Katonda wammwe ng'abamawanga abo bwe basinza bakatonda baabwe. Naye mmwe munaasinzizanga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, n'akitongoza mu bika byammwe okusinzizangamu erinnya lye, eyo gye munaagendanga. Eyo gye munaatwalanga ebiweebwayo: ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, obweyamo, ne bye muwaayo ku bwammwe, ebibereberye by'ente zammwe n'eby'endiga zammwe. Era munaaliiranga mu kifo ekyo, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye mukoze n'emikono gyammwe, wamu n'ab'omu nnyumba zammwe, nga Mukama Katonda wammwe bw'abawadde omukisa. Temukolanga ebyo byonna bye tukola wano kaakano; kubanga buli muntu abadde akola ekyo ky'alowooza nti kye kituufu mu maaso ge; kubanga temunnatuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa gye munaabeeranga mu mirembe. Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, anaabawonyanga eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga ne mutuula mirembe. Awo Mukama Katonda wammwe bw'alimala okweroboza ekifo eky'okutuuzaamu erinnya lye ne mulyoka mutwala eyo eby'okuwaayo byonna bye mbalagira: ebiweebwayo ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, n'obweyamo bwammwe bwonna eri Mukama. Munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna busika bwa ttaka nga mmwe. Mwekuumenga muleme okuweerangayo mu buli kifo kye mulaba ebyo bye muwaayo ebyokebwa; naye munaabiweerangayo mu kifo kimu kyokka Mukama ky'alyeroboza okuva mu bika byammwe. Eyo gye munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa, era gye munaakoleranga ebyo byonna bye mbalagira. Naye munaayinzanga okutta ebisolo ne muliira ennyama yaabyo wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, nga Mukama bw'anaabanga abawadde omukisa. Abatali balongoofu n'abalongoofu banaagiryangako nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza. Kyokka temulyanga ku musaayi; munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi. Temuliiranga mu bifo gye munaabeeranga, ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano, eby'envinnyo, eby'amafuta ag'emizeyituni, eby'ebibereberye by'ente n'endiga, eby'ebintu byonna bye mweyama, eby'ebintu byonna bye muwaayo ku bwammwe n'ebyo ebisitulibwa n'emikono. Naye munaabiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abanaabeeranga mu bibuga byammwe. Munaasanyukiranga ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'abawadde mu mikono gyammwe. Mwekuumenga mulemenga okusuuliriranga Abaleevi ennaku zonna ze munaabeeranga abalamu mu nsi yammwe. “Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yabasuubiza, ne muyoya ennyama, munaagiryanga nga bwe munaayagalanga. Ekifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, bwe kinaabanga ewala, munattanga ku nte ne ku mbuzi zammwe, Mukama z'abawadde, ne muziriira gye munaabeeranga nga bwe munaayagalanga. Abatali balongoofu n'abalongoofu banaaziryangako kye nkanyi, ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa. Kyokka mwegendereze mulemenga okulya ku musaayi; kubanga mu musaayi mwe muli obulamu; tolyanga musaayi awamu n'ennyama. Temugulyanga, wabula munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi. Bwe munaakwatanga ekiragiro ekyo, ne mutagulyako; abaana bammwe n'abazzukulu bammwe banaalabanga ebirungi. Byo ebintu ebitukuvu n'obweyamo eby'okuwangayo munaabitwalanga mu kifo ekyo Mukama ky'alyeroboza. Munaaweerangayo eyo ku kyoto kya Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo eby'okebwa, ennyama n'omusaayi. Omusaayi gwa ssaddaaka zammwe gunaayibwanga ku kyoto, nammwe munaalyanga ennyama. Mukwatenga ebyo byonna bye mbalagira, mulyoke mulabenga ebirungi, mmwe n'abaana bammwe, n'abazzukulu bammwe, emirembe gyonna, bwemunaakolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi era eby'ensonga.” “Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'agenda okubawa; amawanga ago bwe galimala okuzikirizibwa mu maaso gammwe, mwekuumenga mulemenga okugwa mu bikemo eby'okusinza ba katonda ab'amawanga ago, nga mwegomba okusinzanga bo. Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe, nga mukola eby'omuzizo Mukama by'akyawa ebyakolebwanga ab'amawanga ago ne batuuka n'okuwaayo batabani baabwe ne bawala baabwe okubookya omuliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe. Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga ne mukikola; temukyongerangako, era temukisalangako.” “Bwe wanaabangawo wakati mu mmwe nnabbi oba omuntu aloota ebirooto, n'abawa akabonero oba eky'amagero, akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne bwe kituukiriranga, kyokka n'abagamba okuweereza bakatonda abalala bemutamanyangako era be mutaweerezangako, temukkirizanga nnabbi oyo, oba omuntu oyo aloota ebirooto; kubanga Mukama Katonda wammwe anaabagezesanga okulaba oba nga mu mwagala n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna. Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezanga, ne mwegattanga naye. Era nnabbi oyo oba omuntu oyo aloota ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde ebigambo ebibajeemesa okuva ku Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'abanunula mu nnyumba ey'obuddu, nga abasendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wammwe lye yabalagira okutambulirangamu. Kale mwe mutyo bwe munaggyangamu okwonoona wakati mu mmwe.” “Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi wo, oba mukwano gwo ennyo, bw'akusendasendanga mu kyama, ng'ayogera nti, ‘tugende tuweereze bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe, newakubadde bajjajjaabo,’ ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde, abali okumpi nammwe, oba abali ewala mu nsi, tomukkirizanga so tomuwuliranga; tomukwatirwanga kisa, tomusonyiwanga, so tomukwekanga; naye omuttanga; ggwe osookanga okumukuba amayinja n'abalala bonna ne balyoka bagamukuba okumutta. Onoomukubanga amayinja okumutta, kubanga yagezaako okukusedasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu. Abaisiraeri bonna bwe banaakiwuliranga ekyo, ne batya, era tewaabengawo mu mmwe muntu anaagezangako okukola ekibi ekifaanana bwe kityo wakati mu mmwe.” “Bwemunawuliranga nga boogera ku kimu ku bibuga byammwe, Mukama Katonda wammwe by'abawa okutuulamu, nga bagamba nti, Waliwo abantu abataliiko kye bagasa abavudde wakati mu mmwe, era abasenzesenze abatuula mu bibuga byammwe, nga boogera nti, Tugende tuweereze bakatonda abalala, be mutamanyanga; muneekennenyanga ebigambo ebyo, oba nga ddala bituufu; bwe kizuulibwanga nti bya muzizo era nga bikolebwa wakati mu mmwe; mukwatanga ebitala ne muzikiriza buli muntu atuula mu kibuga ekyo. Musaanyizangawo ddala ekibuga, ne mutta n'ekitala buli muntu akirimu awamu n'ebisolo byonna. Era mukuŋŋaanyizanga wakati mu kibuga ebintu byonna eby'abantu ne mulyoka mu kyokya n'omuliro wamu n'ebintu by'abantu byonna; okuba nga ssaddaaka enjokye eri Mukama Katonda wammwe. Ekibuga ekyo kinaabeeranga matongo ennaku zonna. Temweterekerangako ku kintu kyonna ekikolimiddwa, Mukama alyoke akyuke okuleka obusungu bwe obungi, abalage ekisa, abasaasire era abaaze, nga bwe yalayirira bajjajjammwe. Muwulirenga eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, mwekuumanga ebiragiro bye byonna bye mbalagira leero, okukolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi.” Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe; temwesalanga misale so temumwanga mitwe gyammwe okufaanana nga ab'ebiwalaata nga mukungubagira abafu. Kubanga muli ggwanga ttukuvu erya Mukama Katonda wammwe, era Mukama yabalonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali mu nsi. Temulyaga ku kintu kyonna Mukama kyeyabagaana. Zino ze nsolo ze munaalyanga: ente, endiga n'embuzi, enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n'endiga ey'omu nsiko. na buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era erina ekinuulo ekyaseemu, ezza obwenkulumo, mu nsolo, ezo ze munaalyanga. Ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ezirina ekinuulo ekyaseemu, zino ze mutalyanga: eŋŋamira, akamyu n'omusu, kubanga zizza obwenkulumu naye tezaawulamu kinuulo; si nnongoofu gye muli; n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, nayo si nnongoofu gye muli. Ennyama y'ensolo ezo temugiryangako, wadde okuzikwatako nga zifudde. Bino bye munaalyanga ku byonna ebiba mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagalagamba. Buli ekitalina maggwa n'amagamba temukiryanga; kubanga si kirongoofu gye muli. Ennyonyi zonna ennongoofu munaaziryanga. Zino ze zitali nnongoofu era temuziryangako: ennunda, empungu, makwanzi, wonzi, eddiirawamu, kamunye n'endala eziri mu ngeri ye; nnamuŋŋoona n'endala eziri mu ngeri ye; maaya, olubugabuga, olusove, enkambo n'endala eziri mu ngeri ye; ekiwuugulu, ekkufukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu; kimbaala, ensega, enkobyokkobyo; kasida, ssekanyolya n'ebirala ebiri mu ngeri ye, ekkookootezi, n'ekinyira. Ne byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro si birongoofu gye muli; tebiriibwanga. Mulyanga ku nnyonyi zonna ennongoofu. Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka; muyinza okukiwa bannamawanga abali mu bibuga byammwe bakirye oba okukibaguza; kubanga mmwe muli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wammwe. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina gwayo. Muneesoloozangako ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bibala ebinaavanga mu nnimiro zammwe buli mwaka. Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n'eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna. Era oba ng'olugendo lunaakuyiŋŋanga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa; onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza: kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo: n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo, tomwabuliranga; kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe. Ku buli nkomerero y'omwaka ogwokusatu munaakuŋŋaanyanga ebitundu byonna eby'ekkumi ne mubitereka mu bibuga byammwe; n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu nammwe, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abali munda mu bibuga byammwe, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wammwe alyoke abawe omukisa mu mirimu gyonna gye mukola. Buli myaka omusanvu bwe bweginaggwangako, onoosonyiwanga. Era eno ye ngeri ey'okusonyiwa okwo: buli abanja, anaasonyiwanga ekyo kye yawola muliraanwa we; taakibanjenga muliraanwa we oba muganda we, kubanga Mukama y'alangiridde okusonyiwa okwo; wabula munnaggwanga oyinza okumubanja; naye ekintu kyonna ky'obanja muganda wo on'okimusonyiwanga. Olw'okubanga Mukama anaabawanga omukisa mu nsi gy'abawa okuba obutaka bwammwe, tewaabenga mwavu mu mmwe; kasita munaanyiikiranga okuwulira, ne mutuukirizanga ebiragiro bye bino bye mbawa leero, era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubiza; onoowolanga amawanga mangi, naye ggwe teweewolenga; era onoofuganga amawanga mangi, naye tebaakufugenga ggwe. “Mu mmwe bwe munaabangamu omwavu mu kimu ku bibuga byammwe, mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temuukakanyazanga mitima gyammwe, ne mugaana okuyamba muganda wammwe oyo omwavu, wabula mumukwatirwanga ekisa, ne mumuwola byonna by'anaabanga yeetaaga. Weegendereze walemenga okubaawo obukodo mu mutima gwo, ng'oyogera nti omwaka ogw'omusanvu, gw'osonyiriramu gunaatera okutuuka, n'ogaana okuyamba muganda wo omwavu, naye n'akoowoola Mukama ng'akuwaabira, ne kiba kibi gy'oli. Tolemanga kumuwa, so omutima gwo tegunakuwalanga ng'omuwadde, bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda anaakuwanga omukisa mu mirimu gyonna gy'okola. Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna; kyenva nkulagira nti tolemanga kuyamba muganda wo ali mu bwetaavu.” “Bwe bakuguzanga omwebbulaniya munno, omusajja oba omukazi, n'akuweereza okumala emyaka omukaaga, omwaka ogw'omusanvu omuteeranga ddala n'agenda. Era bw'abanga agenda ng'omutadde, tomulekanga kugendanga talina kintu. Onoomuwanga ku mbuzi zo, ne ku mmere yo ey'empeke ne ku by'omussogolero lyo, nga Mukama bweyakuwa omukisa bw'otyo bw'onoomuwanga. Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula; kyenva nkulagira ekigambo ekyo leero. Naye omuddu wo bw'anaayagalanga okusigala naawe, kubanga akwagala ggwe n'ab'omu maka go, era nga mu mativu, olwo n'olyoka oddira olukato n'omuwummula okutu kwe nga ali ku luggi, n'abeerera ddala muddu wo ennaku zonna. N'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo. Tokalubirirwanga kumusonyiyiranga ddala n'agenda, kubanga yakuweereza emyaka mukaaga emirundi ebiri, okusinga oyo aweererezza empeera.” “Ensolo zammwe ensajja ezisooka okuzaalibwa, ente, embuzi oba endiga, munaazaawulangamu nga za Mukama, temuzikozesanga mulimu gwonna, era n'embuzi oba endiga temuzisalangako byoya. Buli mwaka, mmwe n'ab'omu maka gammwe munaaziriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okumusinzizangamu. Naye bw'eneebangako obulema bwonna obutali bulungi, nga ziwenyera oba nzibe z'amaaso, oba obulema obulala bwonna, temuziwangayo eri Mukama Katonda wammwe. Ezo onooziriiranga munda w'ebibuga byo era abalongoofu n'abatali balongoofu banaaziryangako kyenkanyi nga bwe balya empeewo n'enjaza. Kyokka tolyanga musaayi gwazo, naye oguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.” Mwekuumanga omwezi gwa Abibu, ne mukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wammwe, kubanga mu mwezi ogwo Mukama Katonda wammwe mweyabaggyira mu Misiri ekiro. Era olw'okuyitako, munattiranga Mukama Katonda wammwe ku mbuzi ne ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuzaamu erinnya lye, onoottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi ne ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. Ku mbaga eno temulyanga mmere nzimbulukuse okumala ennaku musanvu, naye munaalyanga emmere eteri nzimbulukuse, y'emmere ey'okunakuwala, kubanga mwava mu nsi y'e Misiri nga mwanguyirira. Munajjukiranga olunaku lwe mwaviiramu mu nsi ey'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwammwe. Mu nsi yammwe temubeerangamu alina ekizimbulukusa mu nnyumba ye okumala ennaku musanvu, era n'ennyama ey'ensolo ezitiddwa akawungeezi ku lunaku olwolubereberye tesulangawo okutuusa enkya. Tottiranga ensolo eziweebwayo olw'Okuyitako munda mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by'akuwa, naye munnazittiranga mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza akawungeezi, enjuba ng'egwa, nga bwe kyali nga muva e Misiri. Era munaagyokyanga ne mugiriira mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza; enkeera ne muddayo mu weema zammwe. Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimu gwonna. “Munaabalanga Ssabbiiti musanvu okuva lwe munaatandikanga okukungula eŋŋaano mu nnimiro, ne mulyoka mukola Embaga eyitibwa eya Ssabbiiti Omusanvu, okussaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga mumuleetera ekiweebwayo kye mwesiimidde okusinziira ku mikisa Mukama Katonda wammwe gy'abawadde. Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe ne bannamawanga ne bamulekwa ne bannamwandu abali wakati wammwe, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. Era mujjukiranga nga mwali baddu mu Misiri, era munaakwatanga ne mutuukiriza amateeka gano.” “Bwe munaabanga mumaze okutereka emmere yammwe ey'empeke n'eby'omu masogolero gammwe, munaakolanga embaga ey'ensiisira okumala ennaku musanvu; nga musanyukira wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe. Okumala ennaku musanvu, muneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wammwe mu kifo Mukama ky'alyeroboza, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bibala byammwe byonna ne mu mirimu gyammwe gyonna, era munaabanga n'essanyu jjereere.” “Abasajja bonna ab'omu ggwanga lyammwe, banajjanga okusinza Mukama Katonda wammwe emirundi esatu mu mwaka: ku mbaga ey'Emigaati Egitazimbulusiddwa, ku mbaga eya Ssabbiiti Omusanvu, ne ku mbaga ey'Ensiisira, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Era tebajjenga mu maaso ga Mukama nga tebalina kye baleese. Buli muntu anaawanga nga bw'anaayinzanga, ng'omukisa bwe gunaabanga Mukama Katonda we gw'amuwadde.” “Munnassangawo abalamuzi n'abaami mu bibuga Mukama Katonda wammwe by'abawa ng'ebika byammwe bwe biri, era banaasaliranga abantu emisango egy'ensonga. Temukyamyanga musango; temusalirizanga bantu; so temulyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'ab'amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by'abatuukirivu. Bulijjo mubeerenga beesimbu era ba mazima, lwe muliba abalamu ne musikira ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa.” “Temwesimbiranga muti gwonna okuba ng'akabonero ka katonda Asera, ku mabbali g'ekyoto kya Mukama Katonda wammwe; So temwesimbiranga mpagi ey'ejjinja eya katonda omulala yenna, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala.” Temuwangayo ente newakubadde endiga eriko obulema oba akamogo konna okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe kubanga ekyo kya muzizo gy'ali. Bwe wanaalabikangawo mu kimu ku bibuga byammwe Mukama Katonda wammwe by'abawa, omusajja oba omukazi asobezza endagaano, n'aweereza ba katonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba mmunnyeenye bye ssaalagira; bwe banaababuuliranga, ne mukiwulira, munaanyiikiranga okubuuliriza, era bwe kinaabanga eky'amazima, nga tekibuusibwabuusibwa, eky'omuzizo ekyo nga kikolebwa mu Isiraeri; Kale munaafulumyanga omusajja oyo oba omukazi oyo akoze ekibi ekyo ebweru w'ekibuga kyammwe ne mubakuba amayinja n'afa. Wabula olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu lw'anattibwanga; naye bw'anaabanga omujulirwa omu yekka tattibwenga. Abajulirwa be banaasookanga okumukuba amayinja, olwo n'abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba amayinja okumutta; bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo. Bwe wanaabangawo emisango gye mutasobola kusalira mu bibuga byammwe, ng'egy'obussi, enkaayana z'ebintu, oba ebisago ebituusiddwa ku bantu, olwo munaasitukanga ne mugenda mu kifo Mukama ky'alyeroboza. Munaagendanga eri bakabona Abaleevi n'eri omulamuzi anaabangawo mu kiseera ekyo ne mubeebuuzaako, ne babalaga ensala y'omusango Nammwe munaasalanga omusango nga bwe banaabalaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza. Muneegenderezanga okukolanga ebyo byonna bye banaabanga babalagidde. Munakkirizanga ensala yaabwe, ne mutuukiriza ebyo byonna bye babalagidde awatali kukyusaamu wadde okuwunjawunja. Omuntu yenna anaajeemeranga ensala ya Kabona aweereza mu Maaso ga Mukama, oba omulamuzi, omuntu oyo anaafanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi mu Isiraeri. Olwo abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne batakola nate bya bujeemu. Bwe muliba nga mutuuse mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu; ne musalawo okussaawo kabaka okubafuga ng'amawanga gonna agabeetoolodde bwe gali; mussangawo omu ku baganda bammwe, Mukama gw'alyeroboza okuba kabaka okubafuga; si kirungi mmwe okussaawo mu nnaggwanga okubafuga. Kyokka kabaka tagezangako okwefunira embalaasi ennyingi wadde okuzzaayo abantu e Misiri alyoke yefunire embalaasi ennyingi; kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano. So teyeefuniranga bakazi bangi, omutima gwe gulemenga okukyuka: so teyeefuniranga ffeeza newakubadde zaabu ennyingi ennyo. Awo olulituuka bw'alituula ku ntebe y'obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo, ng'aliggya mu ekyo ekiri mu maaso ga bakabona Abaleevi. Anaabeeranga nakyo, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe; ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga: omutima gwe gulemenga okwegulumiriza ku ba Isiraeri banne, era alemenga okukyama okuva ku biragiro bino; olwo alyoke awangaale ennaku nnyingi ku bwakabaka bwe, ye n'abaana be, mu Isiraeri. “Bakabona Abaleevi, kye kika kyonna ekya Leevi, tebabanga na mugabo newakubadde obusika mu Isiraeri; wabula banaalyanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokebwa n'omuliro, n'ebiweebwayo ebirala. Tebabanga na butaka mu baganda baabwe; Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba. Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawangayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, n'enda. Ebibereberye by'eŋŋaano yo, eby'envinnyo yo n'eby'amafuta go, n'ebibereberye by'ebyoya by'endiga zo, onoobimuwanga. Kubanga mu bika byammwe byonna Mukama Katonda wammwe yerobozamu ekika kya Leevi okumuweerezanga ennaku zonna.” “Omuleevi bw'anaavanga mu kimu ku bibuga byammwe mw'abeera n'agenda mu kifo ekirala Mukama ky'alyeroboza, era nga yeeyagalidde okugenda, naaweerezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe nga baganda be bonna Abaleevi abaweerereza eyo mu maaso ga Mukama bwe bakola. Anaafunanga omugabo gwe mmere gwe gumu nga banne, nga tobaliddeeko ebyo by'anaabanga afunye mu b'eŋŋanda ze.” “Bwe mutuukanga mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temugezanga ne muyiga okukola eby'emizizo eby'amawanga ago bye bakola. Tewabangawo omuntu yenna mu mmwe awaayo mutabani we oba muwalawe okwokebwa mu muliro nga ssaddaaka; newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga, newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu. Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama; era olw'emizizo egyo, Mukama Katonda wammwe kyava abagoba mu nsi gye mugendamu. Temuubengako kya kunenyezebwa eri Katonda wammwe.” “Kubanga amawanga gano ge mugenda okugoba mu nsi gye mugendamu, beebuuza ku abo abalaguza ebire n'abafumu; naye mmwe Mukama Katonda wammwe abagaanyi okukolanga bwe mutyo. Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi, ava mu baganda bammwe, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira; kubanga mwasaba Mukama Katonda wammwe ku lusozi Kolebu, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako nga mwogera nti, ‘Tuleme kuddayo kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe nate, wadde okuddamu okulaba omuliro guno omungi, tuleme okufa.’ Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Boogedde bulungi. Ndibayimusiza nnabbi okuva mu baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira. Kale buli ataliwulira bigambo byange nnabbi oyo by'alyogera mu linnya lyange, ekyo kye ndimuvunaana. Naye nnabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkirizza bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nnabbi oyo anaafanga.’ Era bwe muneebuuzanga mu mitima gyammwe nti, ‘Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?’ Nnabbi bwanetulinkirizanga, n'ayogera mu linnya lya Mukama, byayogedde ne bitabaawo oba ne bitatuukirira, oyo temumutyanga.” “Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'abawa okuba obutaka, ne mutuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe. Mulyerondera ebibuga bisatu mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu. Ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka muligigabanyamu ebitundu bisatu, buli kimu nga kirimu ekibuga eby'obuddukiro, era mulyerimira enguudo ezituuka mu bibuga ebyo. Buli atta omuntu nga tagenderedde addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo. Oyo anattanga omuntu nga tagenderedde, so nga gw'asse tabadde mulabe we, annaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe. Ekyokulabirako, singa omuntu agenda ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe. Singa ekibuga kibeera ekimu, olugendo lwandibadde luwanvu nnyo okukituuka mu, oyo awooleera eggwanga ng'akyalina obusungu olw'omuntu eyattibwa, n'awondera eyatta, n'amutuukako, n'amutta, sso nga teyandittiddwa kubanga gwe yatta teyali mulabe we. Kyenva mbalagira mwerondere ebibuga bisatu. Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yalayirira bajjajjammwe, n'abawa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajjammwe; bwemuneekuumanga ebiragiro bino byonna okubikola, bye mbalagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu. Mulikola bwe mutyo, abantu abataliiko musango baleme kuttirwa mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, nammwe ne mubaako omusango. Naye omuntu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amufumita, n'amutta; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo; kale abakadde b'ekibuga kye, banaamutumyanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo eri oyo awooleera eggwanga, n'attibwa. Temumukwatirwanga kisa, naye muggyangawo omutemu oyo, mulyoke mulabenga ebirungi.” “Bwe mulituuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, temujjululanga bulambe obwa nsalo za baliraanwa bammwe, ab'edda ze baatekawo.” “Omujulizi omu yekka taasingisenga muntu musango olw'ekibi oba olw'ekintu kyonna omuntu ky'anaabanga asobezza. Ensonga eneekakasibwanga lwa bujulizi bwa bantu babiri oba basatu. Omujulirwa ow'obulimba bw'anaawayirizanga munne okumusingisa omusango, abantu bombi abatakkaanya banaagendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne balamulwa bakabona n'abalamuzi abanaabeerangawo mu kiseera ekyo, kale abalamuzi banaakemerezanga nnyo: era, bwe banaazuulanga ng'omujulizi mulimba, ng'awaayirizza munne; banaamuwanga ekibonerezo ky'abadde ayagaliza munne. Bwe mutyo bwe munneggyangako ekibi ekyo. Awo abantu abalala banaawuliranga ne batya ne batakola kibi ng'ekyo mu mmwe. N'abo abasigalawo b'anaawuliranga ne batya ne batakola nate okuva ku biro biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo. So temukwatibwanga kisa; obulamu busasulwenga obulamu, eriiso lisasulwenga eriiso, erinnyo lisasulwenga erinnyo, omukono gusasulwenga omukono, n'ekigere kisasulwenga ekigere.” “Bwemunatabaalanga okulwana n'abalabe bammwe, ne mulaba embalaasi n'amagaali n'eggye erisinga eryammwe obunene temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey'e Misiri ali wamu nammwe. Bwe munaabanga mugenda mu lutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'abantu, n'abagamba nti, Wulira ggwe Isiraeri, leero mugenda mu lutalo okulwana n'abalabe bammwe; muleme kuddirira wadde okutya, temukankana so temubatekemukira; kubanga Mukama Katonda wammwe ye agenda nammwe, okubalwanirira n'okubalokola eri abalabe bammwe. Abakulu mu ggye banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti, ‘ Wano waliwo omuntu eyazimba ennyumba empya naye nga tannagiwonga eri Mukama?’ Omuntu oyo addeyo eka agiwonge, si kulwa ng'afiira mu lutalo omuntu omulala n'agiwonga. Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? Addeyo eka alye ku bibala, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'abirya. Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? Addeyo eka amuwase, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa. Abakulu baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti, Muntu ki wano atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwamu omutima nga ye. Kale abakulu mu ggye bwe banaamalanga okwogera n'abalwanyi, banassangawo abaduumizi mu ggye okukulembera abalwanyi.” “Bwe munaasembereranga ekibuga okukirwanyisa, munaasokanga ne muwa abakirimu omukisa okujeemulukuka. Awo abali mu kibuga ekyo bwe banaajeemulukukanga, ne beewaayo gye muli, ne babaggulirawo, banaabanga baddu bammwe era banaabaweerezanga. Naye bwe batakkirizenga kwewaayo mu mirembe ne basalawo okulwana, ekibuga ekyo munaakirwanyisanga. Era Mukama Katonda wammwe bw'anaakigabulanga gye muli, munattanga buli musajja akirimu n'obwogi bw'ekitala. Naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, binaabanga munyago gwammwe, munaabyetwaliranga ne mubikozesa, kubanga Mukama Katonda wammwe abibawadde. Bwe mutyo bwe munaakolanga ebibuga byonna ebibali ewala ennyo, ebitali bya mu nsi gye mugenda okutuulamu. Naye ku bibuga by'abantu ebiri mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka; temuwonyangawo kintu kyonna ekissa omukka. Naye munaazikiririzanga ddala; Abakiiti, Abamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, ne Abayebusi; nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira; balemenga okubayigiriza okukola emizizo gyabwe gyonna gye baakoleranga bakatonda baabwe; bwe mutyo muleme okunyiiza Mukama Katonda wammwe. Bwe munaazingizanga ekibuga okumala ennaku ennyingi nga mulwana nakyo okukinyaga, temutemanga miti gya bibala, kubanga muyinza okugiryako, gyo si be balabe bammwe. Emiti egyo gyokka egitaliibwako bibala, gye munaatemanga olw'okuzimbisa bye mwetaaga okulwanyisa ekibuga, okutuusa lwe munaakiwambanga.” “Mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu, omuntu bw'anaasangibwanga mu nsiko ng'attiddwa naye amusse nga tategeerekese; abakadde n'abalamuzi bammwe banaagendanga ne bapima ebbanga, okuva ku mulambo okutuuka ku buli kimu ku bibuga ebiriraanyeewo. Abakulembeze b'ekibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo, banatwalanga ente enduusi, etekozesebwangako mulimu, era etebangako kye walula nga eri ku kikoligo. era abakadde b'ekibuga ekyo banaaserengesanga ente eyo enduusi, mu kiwonvu ekitalimwangamu era ekitasigibwangamu, ekirimu amazzi agakulukuta, ne bakutulira omwo ensingo y'ente eyo. Ne bakabona ab'omu kika kya Leevi, abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, n'okutawulula abakaayana, n'abalwanaganye, banajjanga ne babawoleza. Awo abakadde bonna ab'omu kibuga ekisinga okuba okumpi n'omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu; era banaayogeranga nti, ‘Si ffe twatemula omuntu ono, so n'eyamutemula tetwamulaba.’ Kale nno ayi Mukama, sonyiwa abantu bo Isiraeri, bewanunula, so tobassaako musango olw'omuntu eyattirwa obwereere. Kale omusango gunaabagibwangako. Bwe munaakolanga bwe mutyo, nga Mukama bw'alagira, bwe muneggyangako omusango oguli mu mmwe.” “Bwe munaalwananga n'abalabe bammwe, Mukama Katonda wammwe, n'abawa ne mubawangula, ne munyaga abakazi; mu banyagiddwa, n'olabamu omukazi omulungi n'omwegomba okumuwasa; on'omutwalanga mu nnyumba yo, n'amwebwako enviiri, n'asala n'enjala ze; era anaayambulangamu ebyambalo eby'obunyage, n'abeera mu nnyumba yo okumala omwezi mulamba ng'akabira kitaawe ne nnyina; kale oluvannyuma onegattanga naye n'aba mukazi wo. Awo bw'ataganjenga mu maaso go, onoomulekanga n'agenda gy'ayagala; naye tomutundangamu bintu, so tomuyisanga nga omuzaana, kubanga wegattako naye.” “Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi okusinga omulala, bombi ne bamuzaalira abaana; kyokka ng'omwana omulenzi omubereberye wa mukazi atali muganzi, omusajja oyo bw'anaatuusanga okulaamira abaana be ebintu by'alina, taafuulenga mwana wa mukazi omuganzi okuba omubereberye, mu kifo ky'omwana omulenzi omubereberye omutuufu, eyazaalibwa omukazi atali muganzi, naye anakkirizanga omwana omulenzi omubereberye, ow'omukazi atali muganzi, n'amuwa emigabo ebiri ku byonna by'alina; kubanga oyo ye yasooka okuva mu maanyi ge, eby'omubereberye byonna bibye.” “Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu era omujeemu, nga tagondera kitaawe ne nnyina, era nga tawulira ne bwe bamubonereza; kale kitaawe ne nnyina banaamukwatanga, ne bamutwala eri abakadde ab'omukibuga ku wankaaki; ne bamuloopa eri abakadde ab'omukibuga nti, ‘Omwana waffe ono mukakanyavu era mujeemu, tawulira, wa mpisa mbi era mutamiivu.’ Awo abasajja bonna ab'omu kibuga kyabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta; bw'otyo bw'onoggyangawo obubi wakati mu mmwe; kale Isiraeri yenna anaawuliranga era anaatyanga.” “Omuntu bw'anaakolanga ekibi ekisaanira okumussa, ne bamutta, ne bamuwanika ku muti; omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye mumuziikirangawo ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa, aleme okuleeta ekikolimo ku nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka.” “Bw'olabanga ente oba endiga ya munno nga ebula, togirekanga, ogizzangayo eri nnyiniyo. Naye munno bw'abanga tali kumpi, oba nnyiniyo nga tomumanyi, ogitwalanga ewuwo, okutuusa nnyiniyo lw'aliginoonya n'ogimuwa. Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali. Era onookolanga bw'otyo ne ku ndogoyi ye, ne ku kyambalo kye, ne ku kintu ekirala kyonna ekinaabulanga n'okironda; si kirungi kukikweeka.” “Bw'olabanga endogoyi ya munno oba ente ye nga egudde ku kkubo, togiyitangako; oyambanga n'ogiyimusa.” “Omukazi tayambalanga kya kyambalo kyamusajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi; kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wammwe.” “Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku muti oba mu kkubo; nga kirimu amagi, oba obwana, nga nnyina waabwo amaamidde ku magi oba atudde ku bwana, totwalanga nnyina waabwo awamu n'amagi. Oyinza okutwala obwana, nnyina waabwo n'omuta; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi.” “Bw'ozimbanga ennyumba ey'akasolya akaagaagavu, okatekangako omuziziko; omuntu yenna aleme okuvaako okugwa, n'obaako omusango ogw'obussi. Toosimbenga kirime kirala mu nnimiro yo ey'emizabbibu, olemenga kufiirwa bibala byonna: eby'ekirime kye wasimbamu, n'ebibala eby'emizabbibu, kubanga byonna bya Mukama.” Tolimisanga nte n'endogoyi ku kikoligo ekimu “Toyambalenga lugoye lulukiddwa nga batobeka ewuzi ez'ebyoya, n'ez'ekika ekirala.” “Onootunganga ebijwenge ku nsonda ennya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala.” “Omusajja yenna bw'awasanga omukazi, ne yeegatta naye, ate oluvannyuma n'amukyawa, n'amuwawaabira ng'amwogerako eby'ensonyi, n'ayonoona erinnya lye ng'agamba nti, ‘N'awasa omukazi ono, wabula n'amusanga si mbeerera,’ kitaawe ne nnyina w'omuwala oyo banatwalanga essuuka eyakozesebwa ku buliri, eriko obubonero obw'obutamanya musajja; ne bagireetera abakadde b'ekibuga, mu mulyango awasalirwa emisango, okukakasa nti omuwala yali mbeerera, kitaawe w'omuwala n'agamba abakadde nti, ‘Omusajja ono n'amuwa mwana wange okumuwasa, naye amukyaye; era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno.’ Awo ne banjuluza essuuka mu maaso g'abakadde b'ekibuga. Awo abakadde b'ekibuga ekyo ne batwala omusajja oyo ne bamukuba; ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi (100), ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga omusajja oyo yayonoona erinnya ly'omwana embeerera Omuisiraeri; era anaabanga mukazi wa musajja oyo obutamugobanga ennaku zonna. Naye omusajja ky'alumiriza bwe kinaabanga ekituufu, nga tewali bukakafu bulaga nti omuwala yali mbeerera, awo banaamutwalanga ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta, kubanga yakola eby'ensonyi mu Isiraeri, n'ayendera mu nnyumba ya kitaawe; bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi ekyo mu Isiraeri.” “Omusajja bw'anaakwatibwanga nga yeegasse n'omukazi omufumbo, bombi banattibwanga; bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi ekyo mu Isiraeri.” “Bwe wabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa, omusajja omulala n'amusanga mu kibuga ne yeegatta naye; bombi munabatwalanga ku wankaaki w'ekibuga ekyo ne mu bakuba amayinja ne bafa, kubanga omuwala teyakuba nduulu ng'ali mu kibuga; era kubanga n'omusajja ye gatta ne mukazi wa munne; bw'otyo bw'onoggyanga ekibi ekyo wakati mu Isiraeri.” “Naye omusajja bw'asanganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, n'amukaka okwegatta naye; omusajja yekka y'anattibwanga. Naye omuwala temumukolangako kabi konna, kubanga anaabanga talina kibi kimusaanyiza kuttibwa; kino kifaanana n'omuntu afubutukira munne n'amutta. Kubanga omuwala oyo ayogerezebwa, yasangibwa mu nnimiro, n'akuba enduulu, ne watabaawo amudduukirira.” “Omusajja bw'anaagwikirizanga omuwala embeerera atayogerezebwa, n'amukwata, ne yeegatta naye, ne babalaba; kale omusajja oyo, anaawanga kitaawe sekeri eza ffeeza ataano (50), olwo n'alyoka afuuka mukazi we, kubanga yeegatta naye, era tamugobanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.” Omusajja teyegattanga na muka kitaawe, aleme okuswaza kitaawe. Eyalaayibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ddala ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu be abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. Omwamoni n'Omumowaabu tebayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna: kubanga baagaana okubawa emmere n'amazzi bwe mwali muli mu lugendo nga muva e Misiri era kubanga bagulirira Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya okubakolimira, tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya, Kubanga Mukama Katonda wammwe yabaagala, n'agaana okuwulira Balamu; naye n'afuula ekikolimo kye okuba omukisa gye muli. Ennaku zonna temukolereranga kuleetawo mirembe na bantu abo, wadde okubayamba okuba obulungi. Temukyawanga ba Edomu; kubanga baganda bammwe; so temukyawanga Bamisiri, kubanga mwali bagenyi mu nsi yaabwe. Bazzukulu baabwe bannakabirye banaakkirizibwanga okuyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. Bwe mubeeranga mu nsiisira mu biseera eby'entalo mwewalenga ekintu kyonna ekiyinza okubafuula abatali balongoofu. Bwe wanaabangawo mu mmwe omusajja afuuse atali mulongoofu olw'okwerooterera ekiro, anaafulumanga olusiisira, n'abeera ebweru waalwo. Naye obudde bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga, n'akomawo mu lusiisira ng'enjuba egudde. Era munaabeeranga ne kabuyonjo ebweru w'olusiisira, gye munaafulumanga. Era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; bw'onoofulumanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya, oluvannyuma n'oziika mu ekyo ekinakuvangamu ng'omaze okweteewuluza. Munaakuumanga olusiisira lwammwe nga luyonjo, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabeeranga wamu nammwe mu lusiisira okubakuuma, n'okubasobozesa okuwangula abalabe bammwe. Mwewalenga buli ekitali kirongoofu, ekiyinza okumunyiiza, n'abakuba amabega. Tozzangayo muddu eyabomba ku Mukama we n'ajja gy'oli okumukuuma. Anaabeeranga naawe mu nnyumba yo nga bw'anaasimanga; tomujooganga. Tewabanga mwenzi ku bakazi ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku basajja ba Isiraeri. Ensimbi ezifuniddwa omukazi oba omusajja mu bwenzi obw'omu Yeekaalu, temuzireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe okutuukiriza obweyamo, kubanga Mukama Katonda akyayira ddala obwenzi obwengeri eyo. Temuggyanga magoba ku baganda bammwe be muwola ensimbi, oba mmere, oba ekintu ekirala kyonna; naye si kibi okuwola bannamawanga ne mubaggyako amagoba; naye baganda bammwe temubawolanga ne mubaggyako amagoba; Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga omukisa mu byonna bye munaakolanga, mu nsi gye mugenda okutuulamu. Bwe muneeyamanga obweyamo eri Mukama Katonda wammwe, temulwangawo kubutuukiriza; kubanga Mukama Katonda wammwe talirema ku bubabuuza ne kifuuka ekibi gye muli. Naye bwe muteeyamenga tewaabengako kibi kye mukoze. Ekyo kye muneeyamanga n'emimwa gyammwe nga mweyagalidde mukikuumanga ne mukituukiriza. Bw'oyingira mu lusuku lwa munno, olw'emizabbibu, si kibi okulya ezabbibu n'okkuta nga bw'oyagala; naye togitwalirangako mu kintu kyonna. Bw'onoogendanga mu nnimiro ya munno ey'eŋŋaano etennakungulwa, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo n'olya; naye tosalanga n'ekiwabyo eŋŋaano ya munno etennakungulwa. “Omusajja bw'awasanga omukazi, n'ataganja mu maaso ge, kubanga alabye ekitali kirungi ku ye, bba anaamuwandiikiranga ebbaluwa, n'agimukwasa. Omukazi agobeddwa bw'atyo ayinza okugenda n'afumbirwa omusajja omulala. Bba ow'okubiri naye bw'amukyawanga n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba n'agimukwasa, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba oyo bw'afanga; bba ow'olubereberye eyamugoba tamuddiranga, kuba yamala okumwonoona; ekyo kya muzizo mu maaso ga Mukama; temukolanga kibi bwe kityo, muleme okwonoona ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka.” “Omusajja bw'abanga yakawasa, talondebwanga kutabaala mu lutalo, so takozesebwanga mulimu gwonna ogwa lukale okumala omwaka mulamba; anaalekebwanga, n'abeera awaka ng'asanyusa mukazi we. Omuntu yenna taasingirwenga lubengo oba enso, ebikozesebwa mu kusa emmere; kuba kifaanana nga okusingirwa obulamu bw'omuntu.” “Omuisiraeri bw'anawambanga mu Isiraeri munne n'amufuula omudduwe oba n'amutunda okuba omuddu, omuwambi oyo anattibwanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo.” “Bw'olwalanga endwadde ey'ebigenge, wegenderezanga nnyo n'okolera ddala byonna bakabona Abaleevi bye banaakugambanga, nga bwe nnabalagira. Jjukira Mukama Katonda wo bye yakola Miryamu mu kkubo bwe mwali muva e Misiri.” “Bw'oyazikanga muntu munno ekintu kyonna, toyingiranga mu nnyumba ye kuggyayo kyambalo ky'akuwa ng'omusingo, naye obeeranga bweru, gw'oyazise n'akuleetera omusingo ogwo. Era gw'oyazise bw'abeeranga omwavu tosulanga n'omusingo gwe. Ekyambalo kye eky'omusingo okimuddizanga akawungeezi asobole okukisulamu, alyoke akusabire omukisa; era ne Mukama Katonda wo alyoke akusiime.” “Tolyazaamanyanga mpeera y'amukozi wo omwavu, mu nnaggwanga oba Omuisiraeri, abeera mu bibuga byammwe. Onoomusasulanga empeera y'olunaku lw'akoze ng'enjuba tennagwa, kubanga empeera ye agyetaaga, era ab'alindiridde okugifuna; alemenga okukabirira Mukama ng'akuwawaabira n'obaako omusango.” “Abazadde tebattibwenga lwa misango giziddwa baana baabwe, so n'abaana tebattibwenga lwa misango giziddwa bazadde baabwe. Naye omuntu anattibwanga lwa musango gw'azizza ye yennyini.” “Tosalirizanga, mu nnaggwanga oba mulekwa, era tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu. Jjukira nga wali muddu mu misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo; kyenva nkulagira okukolanga bw'otyo.” “Bw'okungulanga ebikungulwa mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, ne weerabirayo ekinywa, toddangayo kukikima; kinaabanga kya munnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu. Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola.” “Bw'okubanga ebibala by'emizeyituni gwo, toddangayo lwakubiri kukuba ebisigaddeko. Ebyo, binaabanga bya mu nnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu Bw'okungulanga ezabbibu mu lusuku lwo toddangamu mulundi gwa kubiri; ezisigaddemu zinaabanga za mu nnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu. Jjukira nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, kye nva nkulagira okukolanga bw'otyo.” “Bwe wabangawo enkayana mu Baisiraeri ne bagenda eri omulamuzi okubatawulula, omulamuzi anaalaganga ku bombi omutuufu n'omusobya. Omusobya bw'anaaweebwanga ekibonerezo eky'okukubwa emiggo, omulamuzi anaalagiranga n'agalamira, n'akubirwa mu maaso ge emiggo egigya mu musango gw'azzizza. Ekibonerezo tekissukenga miggo ana (40). Muganda wo oleme ku muweebuula nnyo mu bantu banne.” “Tosibanga mumwa gwa nte ng'ewuula.” “Abasajja ab'oluganda bwe banaabanga ab'obutaka obumu, omu kubo n'afa nga tazadde mwana wa bulenzi, nnamwandu we taafumbirwenga musajja mulala atali wa luganda lwa mufu. Muganda w'omufu oyo anaawasanga nnamwandu n'amukolera ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we. Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n'afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba. Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangulibwa okuva mu Isiraeri. Naye omusajja oyo bw'abanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga ku mulyango gw'ekibuga eri abakadde, n'abagamba nti, ‘Mulamu wange agaanye okubbula erinnya lya muganda we mu Isiraeri. Tayagala kukola ekyo muganda w'omufu ky'ateekwa okukolera mulamu we.’ Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe banaamuyitanga ne bamubuuza, bw'anaakakasanga nti, ‘Ssaagala kumuwasa,’ Nnamwandu wa muganda we anajjanga w'ali mu maaso g'abakadde, n'amunaanulamu engatto mu kigere ekimu, n'amuwandira amalusu mu maaso, ng'agamba nti, ‘Omusajja agaana okuzaalira muganda we omusika, bw'atyo bw'ayisibwa!’ Era erinnya lye liyitibwenga mu Isiraeri nti, ‘Nnyumba y'oyo eyanaanulwamu engatto.’ ” “Abasajja babiri bwe banaabanga balwanagana bokka na bokka, mukazi w'omu ku bo n'ajja okutaasa bba, n'agolola omukono n'akwata ebitundu eby'ekyama eby'omusajja alwana ne bba; omukazi oyo atemwangako omukono awatali kusaasirwa.” “Tokozesanga bipima bibiri byanjawulo; ekituufu n'ekitali kituufu, Tobanga na bigera bibiri, ekituufu n'ekitali kituufu mu nnyumba yo. Okozesanga ebipima n'ebigera ebituufu, olyoke owangalirenga mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, ennaku zo zibe nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa. Kubanga Mukama Katonda akyawa bonna abakumpanya.” “Jjukira Abamaleki bye bakukola mu kkubo bwe mwali muva e Misiri; bwe babalumba mu kkubo nga mukooye, ne batatya Katonda, ne batta bonna abaali basembyeyo emabega abaali basenvula. Awo olulituuka, Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubawa emirembe, nga muwangudde abalabe bammwe bonna ababeetoolodde, nga mutudde mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, temwerabiranga kusaanyizaawo ddala Abamaleki baleme kujjukirwa ku nsi.” “Bwe mulimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, era nga mukkalidde; Buli muntu anaatoolanga ku bibereberye by'ebibala byonna eby'ettaka, by'aliggya mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawadde; n'abiteeka mu kibbo, n'abitwala mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okumusinzizangamu. Aligenda eri kabona alibaawo mu kiseera ekyo, n'amugamba nti, ‘Kaakano nkakasa Mukama Katonda wange nti nnyingidde mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.’ Kale kabona aliggya ekibbo mu mikono gye, n'akissa wansi mu maaso g'ekyoto kya Mukama Katonda we. Naye aliddamu n'ayogera mu maaso ga Mukama Katonda we nti, ‘Bajjajjaffe Abasuuli baali batambuze era abagenyi mu Misiri, bwe batuula eyo, abaali abatono ne bayala, ne bafuuka eggwanga eddene ery'amaanyi. Abamisiri ne batukola bubi, ne batubonyaabonya, ne batukaluubiriza obulamu; ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajjaffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe, n'okutegana kwaffe, n'okujoogebwa kwaffe: Mukama n'atuggya mu Misiri n'omukono gwe ogw'amaanyi ogwagololwa, n'entiisa ennyingi, n'obubonero n'eby'amagero; n'atuyingiza mu kifo kino, n'atuwa ensi eno, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki. Era kaakano nzuuno ndeese bye nsoose okukungula mu ttaka lye wampa ayi Mukama.’ ” “Awo anaabiteekanga mu maaso ga Mukama Katonda we, n'amusinza. Onoosanyukanga olw'ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe, n'ab'omunnyumba yo, n'Abaleevi era ne bannamawanga ababeera nammwe.” “Buli mwaka ogwokusatu munaatoolanga ekimu eky'ekkumi eky'ebikungulwa byonna eby'omwaka ogwo, ne mukiwa Abaleevi, bannamawanga, bamulekwa, ne bannamwandu bakiriire mu nnyumba zammwe bakkute; Olwo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, ‘Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu nnyumba yange, era mbiwadde Abaleevi, bannamawanga, bamulekwa, ne bannamwandu; ng'ekiragiro kyo kyonna bwe kiri kye wandagira, sirina kye nsobezzaako oba kye nneerabidde. Ne mukukungubaga kwange sikiryangako, so sikiggyanga mu nnyumba yange mu nnaku zange ez'obutali bulongoofu era sikiwongerangako bafu, naye ŋŋondedde eddoboozi lya Mukama Katonda wange, ne nkola byonna bye wandagira nga bwe biri. Kale tunula ng'osiinziira mu ggulu, mu kifo kyo ekitukuvu mw'otuula, ow'e omukisa abantu bo Isiraeri, n'ettaka ly'otuwadde, nga bwe wasuubiza bajjajjaffe okutuwa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ ” “Leero Mukama Katonda wo akulagira okukwatanga amateeka gano n'ebiragiro; kyonoovanga obyekuuma n'obituukiriza, n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna. Oyatudde leero Mukama nga ye Katonda wo, era ng'onootambuliranga mu makubo ge, ne weekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye n'ogonderanga eddoboozi lye, era Mukama ayatudde n'akukakasa leero, ggwe okubeeranga eggwanga ery'envuma gy'ali, nga bwe yakusuubiza, era weekuumenga ebiragiro bye byonna; era anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna ge yakola, olyoke oweese erinnya lye ekitiibwa n'ettendo; era on'obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yayogera.” Awo Musa n'abakadde ba Isiraeri, ne balagira abantu, nga boogera nti, “Mwekuumenga ebiragiro byonna bye mbalagira leero. Ku lunaku lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, mulyesimbira amayinja amanene ne mugasiigako ennoni. Bwe mulimala okusomoka, muliwandiika ku mayinja ago ebigambo byonna eby'amateeka gano, ne mulyoka muyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabasuubiza. Bwe mulisomoka Yoludaani, ne mulyoka musimba amayinja gano ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, ne mugasiigako ennoni. Era mulizimbira Mukama Katonda wammwe, ekyoto eky'amayinja agatatemeddwa na kyuma. Ekyoto kya Mukama Katonda wammwe munaakizimbyanga amayinja agatali mateme; era okwo kwe munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wammwe; era munaasalanga ebiweebwayo olw'emirembe, ne mubiriira eyo, ne musanyukira mu maasa ga Mukama Katonda wammwe. Ebigambo byonna eby'amateeka gano mubiwandiikiranga ddala bulungi ku mayinja ago.” Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti, “Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo. Kyonoovanga ogondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okolanga ebiragiro bye n'amateeka ge, bye nkulagira leero.” Awo Musa n'akuutira abantu ku lunaku olwo, ng'ayogera nti, “Bwe mulisomoka Yoludaani, Ebika bino bye biriyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa: ekya Simyoni, ekya Leevi, ekya Yuda, ekya Isakaali, ekya Yusufu n'ekya Benyamini. Era bino bye bika ebiriyimirira ku lusozi Ebali okukolima: ekya Lewubeeni, ekya Gaadi, ekya Aseri, ekya Zebbulooni, ekya Ddaani n'ekya Nafutaali. Abaleevi balyogera ebigambo bino byonna eri abasajja bonna aba Isiraeri n'eddoboozi eddene nti, ‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole, ekibajje oba ekisaanuuse, eky'omuzizo eri Mukama, n'akiteekawo n'akisinza akolimirwe.’ ” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Omuntu anyooma kitaawe oba nnyina, akolimirwe.” Abantu bonna ne bagamba nti Amiina. “Omuntu ajjulula ensalo ya muliraanwa we, akolimire.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Omuntu awabya omuzibe w'amaaso okumujja mu kkubo ettuufu, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Omuntu asaliriza munnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Buli musajja asobya ku muka kitaawe, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Omuntu eyeegatta n'ensolo yonna, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Omusajja asobya ku mwannyina, omwana wa kitaawe oba owa nnyina akolimirwe.” Abantu bonnna baddemu nti Amiina. “Omuntu yenna asula ne nnyazaala we akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Omuntu yenna atemula muliraanwa we akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Omuntu yenna agulirirwa okutta omuntu ataliiko musango, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. “Buli muntu yenna atakwata bigambo by'amateeka gano okubituukiriza akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina. Bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo n'okugondera ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi Bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, emikisa gino gyonna ginaakujjiranga era ginaakutuukangako. Onoobanga n'omukisa mu kibuga, era onoobanga n'omukisa mu kyalo. Onoobanga n'omukisa n'ozaala abaana bangi, era n'oyaza ebirime, ebiraalo by'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi. Onoobanga n'emmere ekumala okulya n'okutta. Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga. Abalabe bwe banaakulumbanga okukulwanyisa Mukama anaakuwanga obuwanguzi. Banaafulumanga okukulumba mu kkubo limu, naye ne badduka okuva mu maaso go mu makubo musanvu. Mukama anaawanga omukisa emirimu gyo gyonna n'amaterekero go ganajjulanga emmere era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu nsi gy'akuwa okutuulamu. Bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliranga mu makubo ge, Mukama anaakufuulanga eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakulayirira. Amawanga gonna ag'oku nsi bwe ganaalabanga ng'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ganaakutyanga. Mukama anaakuwanga ebirungi bingi, n'ozaala abaana bangi, n'ayaza ebisibo byo era n'ebirime byo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa. Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi ery'omu ggulu, n'atonnyesa enkuba mu biseera byayo, era n'akuwa omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola; era onoowolaga amawanga mangi naye nga ggwe tewewola. Bw'onoowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkukuutira leero okubikwatanga n'okubikola, Mukama anaakufuulanga mutwe, so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi. Tokyamanga mu kigambo kyonna okuva ku ebyo bye nkulagira leero, n'oweereza bakatonda abalala. Naye, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero; ebikolimo bino byonna birikujjira, era birikutuukako. Olikolimirwa mu kibuga, era olikolimirwa mu kyalo. Onoozaalanga abaana batono n'ebikungulwa byo binaabanga bitono ddala. Toobenga na mmere ekumala, era bw'onoolyanga tokkutenga Toozaalenga baana bangi, era n'ebikungulwa byo binaabanga bitono ddala; ebiraalo by'ente zo n'embuzi zo tebiiyalenga. Onookolimirwanga bw'onooyingiranga era onookolimirwanga bw'onoofulumanga. Bw'onookolanga ebibi n'ova ku Mukama, anaakuleetangako ebikolimo, n'okulemwa, n'okunenyezebwa mu byonna by'onookolanga okutuusa lw'olizikirizibwa n'oggweerawo ddala mangu. Mukama anaakuleetangako kawumpuli anaakumalirangawo ddala okuva mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okubeeramu. Mukama anaakuleetangako endwadde ezinaakukenenyanga, n'omusujja, n'okuzimba, n'okubabuukirirwa okungi. Era anaakusindikiranga entalo n'ekyeya n'okugengewala kw'ebirime. Ebyo byonna binaakulemerangako okutuusa lw'oliggweerawo ddala. Katonda anaaggalangawo eggulu enkuba n'etatonnya, n'ettaka lyo linaafukanga olukalajje. Mu kifo ky'enkuba, Mukama anaasindikanga mbuyaga ya nfuufu n'omusenyu mu nsi yo, okutuusa lw'olizikirira. Abalabe bo bwe banaakulumbanga Mukama anaakuvangamu ne bakuwangula; bw'onoofulumanga okubalumba okuva mu kkubo erimu on'oddukanga okuva mu maaso gaabwe mu makubo musanvu. Amawanga gonna ag'oku nsi, bwe ganaawuliranga ebikutuuseeko ganeewuunyanga, negatya. Bw'onoofanga omulambo gwo gunaabanga kya kulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko; so tewaabengawo aziguŋŋumula. Mukama anaakuleetangako amayute nga ge yalwaza Abamisiri, amabwa, n'endwadde ez'okwetakula, ebitawona. Mukama anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso era anaakweraliikirizanga. Onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza, so toolabenga mukisa mu makubo go; onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo akulokola Bw'onooyogerezanga omukazi, omusajja omulala aneegattanga naye; bw'onozimbanga ennyumba, togisulengamu; era bw'onosimbanga olusuku lw'emizabbibu, toolyenga ku bibala byalwo. Ente yo enettibwanga nga olaba, naye toolyenga ku nnyama yaayo; endogoyi yo eneenyagibwanga ng'otunula, so tekuddizibwenga; n'endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, naye toobengako akuyamba. Batabani bo ne bawala bo banaawambibwanga; onookandanga kutunula buli lunaku bakomewo, nga buteerere, naawe toobengako ky'oyinza kukola. Eggwanga ly'otomanyi lirirya ebikungulwa byonna eby'ettaka lyo byewateganira; era onoojoogebwanga, n'onyigirizibwanga ennaku zonna. Ennaku eyo gy'onoolabanga eneekulalusanga. Mukama anaakulwazanga ku maviivi ne ku magulu amayute agatawonyezeka, ne gakubuna omubiri gwonna, okuva ku bigere okutuuka ku mutwe. Mukama anaakuwaŋŋangusanga ggwe, ne kabaka wo gw'olyerondera okukufuga; n'akutwala mu ggwanga eddala, ggwe ne bajjajjaabo lye mutamanyangako, era onooweererezanga eyo ba katonda abalala, emiti n'amayinja. Mu nsi Mukama gy'anaabanga akuwaŋŋangusirizza, abantu baamu baneewuunyanga ekikutuuseko ggwe, n'owemuka ne bakusekerera. Onoosiganga ensigo nnyingi, naye n'okungulanga ebibala bitono, kubanga enzige zinaabiryanga. Bw'onosimbanga ensuku ez'emizabbibu, n'ozirabirira, toonywenga ku mubisi gwamu newakubadde okukungulamu ebibala, kubanga obuwuka bunaagiryanga. Onoobanga n'emizeyituuni mu nsi yonna; naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga ginaakunkumulanga ebibala byagyo. Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe. Emiti gyo gyonna n'ebikungulwa okuva mu ttaka lyo enzige zinaabiryanga. Bannaggwanga ababeera mu nsi yo baneeyongeranga okukulakulana, naye ggwe nga weeyongera kufeeba. Munnaggwanga anaakuwolanga naye ggwe nga tolina ky'oyinza kumuwola; ye anaabeeranga waggulu, ggwe n'obeera wansi, era ye anaakufuganga. Era ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga binaakugobereranga binaakutuukangako okutuusa lw'olizikirizibwa; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye n'amateeka ge bye yakulagira: era binaabanga ku ggwe okuba akabonero n'ekyewuunyo, ne ku zzadde lyo ennaku zonna: kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo n'essanyu era n'omutima ogujaguza, olw'ebintu byonna okuba ebingi: kyonoovanga oweereza abalabe bo Mukama b'anaasindikanga okukulumba, ng'olumwa enjala n'ennyonta, era ng'oli bwereere, era ng'obulwa ebintu byonna: era anaateekanga ekikoligo eky'ekyuma ku nkoto yo, okutuusa lw'alimala okukuzikiriza. Mukama alikuleetako ggwe abantu ab'eggwanga eddala ng'abaggya ewala ku nkomerero gy'ensi; aboogera olulimi lw'ototegeera, ne bafubutuka ne bakulumba ng'empungu bw'ekola. Abo baliba bakambwe, nga tebatya bakadde, wadde okusaasira abaana abato. Banaalyanga ebisolo byo n'emmere gy'olimye, ne batakulekerawo ŋŋaano wadde omubisi gw'emizabbibu oba amafuta g'omuzeeyituni; wadde ente oba embuzi; n'ofa enjala n'ozikirira. Era banaakuzingizanga mu bibuga byo byonna ebiwanvu era ebigumu bye weesiga, ebiri mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwadde, ne babimenyaamenya. Mukuzingizibwa ne mukunyigirizibwa abalabe, onoolyanga abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo baakuwadde. Omusajja ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, bwalituuka okulya abamu ku baana be, ku nnyama eyo taliwaako muganda we, oba mukazi we omuganzi, wadde abaana be abakyaliwo. Era olw'obutabaako ky'alya kirala kyonna, ku nnyama y'abaana be banaalyanga, taliwaako muntu mulala yenna, olw'okuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe kw'anaabangamu. Omukazi ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, ataganya na kulinnya kigere kye ku ttaka; olw'okuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe, bba gw'ayagala ennyo, ne mutabani we, ne muwalawe anaabalyangako ennyama y'omwana gwe yaakazaala n'ekitanyi mu nkukutu, anaabalyangako mu nkukutu omwana gwe yaakazaala, n'ekitanyi, olw'okubulwa eby'okulya, n'okuzingizibwa, n'okunyigirizibwa abalabe. Bw'otookwatenga ebiri mu mateeka gano gonna agawandiikiddwa mu kitabo kino n'obituukiriza, era bw'otatyenga linnya lya Mukama Katonda wo ery'ekitiibwa era ery'entiisa, Mukama anaakuleeteranga ggwe n'ezzadde lyo okubonaabona okutatendeka, okunene era okutasalako, n'endwadde embi era ezitawona, anaafuulanga ebibonyoobonyo eby'ekitalo, n'ebibonyoobonyo by'ezzadde lyo, ebibonyoobonyo ebinene era ebirwawo ennyo, era endwadde enkambwe era ezirwawo ennyo. Era alikulwaza endwadde zonna ez'e Misiri ze watyanga; zinaakwezingangako ggwe. Era anaakuleeteranga buli ndwadde, n'okubonaabona ebitawandiikiddwa mu kitabo eky'amateeka gano, okutuusa lw'olizikirizibwa. Bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, ne bwe mulyala okwenkana emmunyeenye ez'oku ggulu mulikendeera. Nga Mukama bwe yasanyuka okubakolera ebirungi n'okubaaza, bw'atyo bw'anaasanyukanga okubazikiriza n'okubasaanyaawo, okuva mu nsi gye mugenda okubeeramu. Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n'amayinja. Era mu mawanga ago tolisanyukirayo, tolibaako w'otereera, wabula Mukama alikuwa omutima ogweraliikirira, nga tolaba w'olaga era nga tolina ssuubi. Emisana n'ekiro, obulamu bwo bunaabanga mu kutya n'okweraliikirira nga tomanyi kigenda kukubaako. Ku nkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era n'akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'ebyo by'onoolabanga n'olw'okutya okungi n'okweraliikirira. Mukama alikuddizaayo mu lyato e Misiri, gye nakugamba nti toliddayo gwa kubiri. Nga oli eyo, olyewaayo eri abalabe bo bakugule ng'omuddu oba omuzaana, naye tewaliba akugula. Bino bye bigambo eby'endagaano Mukama bye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, nga by'ongerwa ku bigambo by'endagaano gye yalagaana nabo ku lusozi Kolebu. Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti, “Mwalaba byonna Mukama bye yakola Falaawo n'abaweereza be n'ensi yonna ey'e Misiri. Mwalaba okugezebwa okw'amaanyi, n'obubonero, n'eby'amagero ebikulu; Naye okutuusa kaakano Mukama tabawadde magezi ga kutegeera, na maaso ga kulaba, na matu ga kuwulira. Nange mpezezza emyaka ana (40) nga mbakulembera mu ddungu muno, so ebyambalo byammwe n'engatto zammwe tebikaddiye. Temwalyanga mmere ya bulijjo oba ekitamiiza, naye Mukama yabawanga emmaanu mulyoke mutegeere nga ye Mukama Katonda wammwe. Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka w'e Basani ne batulumba okutulwanyisa, ne tubatta; ne tutwala ensi yaabwe, ensi yaabwe, ne tugiwa Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika ky'Abamanase, okuba obutaka bwabwe. Kale nno mwekuumenga ebigambo eby'endagaano eno, mubituukirizenga, mulyoke mulabenga omukisa mu byonna bye mukola.” “Olwaleero mwenna muyimiridde mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mu bika byammwe, n'abakulu bammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri, abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne bannamawanga abali wakati wammwe, okuva ku mutyabi w'enku okutuuka ku mukimi w'amazzi; Olyoke olagaane endagaano ne Mukama Katonda wo era weeyame okugituukirizanga; alyoke akufuule eggwanga lye, naye abeerenga Katonda wo, nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Endagaano eno n'obweyamo bwayo sigiragaana nammwe mwekka; naye nammwe abayimiridde wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe era ne abo abatannaba kuzaalibwa. Mujjukira embeera zetwalimu mu nsi ey'e Misiri, era ne bwe twatambulanga okuyita mu nsi z'abamawanga amalala; era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaananyi byabwe, eby'emiti, eby'amayinja, eby'effeeza, n'ebya zaabu; n'olwekyo waleme okubaawo mu mmwe leero, omusajja oba omukazi, oba nnyumba oba ekika, akyamya omutima gwe n'ava ku Mukama Katonda waffe okusinza ba katonda b'amawanga gali, n'abanga ekimera ekikaawa eky'obutwa. Naye singa wabaawo omuntu yenna mu mmwe abali wano leero, abawulidde ebigambo eby'ekikolimo kino, n'alowooza mu mutima gwe nti alaba bulungi, wadde nga agugubidde mu bukakanyavu bw'omutima gwe; ekyo kigenda kuzikiriza mwenna abalungi n'ababi. Mukama taamusonyiwenga, naye obuggya n'obusungu bwa Mukama bunaamubuubuukirangako, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuva ku nsi. Omuntu oyo Mukama anaamufuulanga ekyokulabirako mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'amussaako ebikolimo byonna eby'endagaano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka. Mu mirembe egijja, ezzadde lyammwe eriribaddirira, ne bannamawanga abanaavanga mu nsi ez'ewala, banaalabanga ebibonyoobonyo by'ensi yammwe ne ndwadde Mukama zabataddeko. Ensi yammwe yonna eneebanga eyokeddwa, ng'efuuse olukalaggye n'olunnyo. Eriba tekyasigibwamu kantu, nga terina ky'esobola kubaza, era nga tekyameramu muddo. Eriba ezikiriziddwa nga Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza olw'obusungu bwe. Amawanga gonna galyebuuza nti, Mukama ekimukozesezza ensi eno bw'ati kiki? Kiki ekyamusunguwaza ennyo bw'atyo? Abantu ne balyoka baddamu nti, ‘Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri; ne bagenda ne basinza, ne baweereza bakatonda abalala, be baali batamanyi era be yabagaana. Obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino; Mukama mu busungu bwe n'ekiruyi kye, n'okunyiiga okungi, kye yava abagoba mu nsi yaabwe, n'abasaasaanyiza mu nsi endala nga bwe kiri leero.’ ” “Eby'ekyama biba bya Mukama Katonda waffe; naye ebibikkulibwa biba byaffe era by'abaana baffe, emirembe gyonna, tulyoke tukolenga ebigambo byonna eby'omumateeka gano.” Ebyo byonna eby'omukisa n'ekikolimo bye nkugambye, bwe birimala okukutuukako n'obijjukiriranga mu mawanga gonna Mukama Katonda wo gy'aliba akusaasaanyirizza; n'okomawo ggwe n'abaana bo eri Mukama Katonda wo, n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'ogondera eddoboozi lye nga byonna bwe biri bye nkulagira leero; awo Mukama Katonda wo n'alyoka akyusa okunyagibwa kwo, n'akusaasira, n'akomawo n'akukuŋŋaanya okukuggya mu mawanga gonna gye yakusaasaanyiriza. Ne bw'oliba ng'osaasaanidde mu nsonda ez'ensi ez'ewala, Mukama Katonda wo alikukuŋŋaanyaayo n'akukomyawo, era Mukama Katonda wo alikukomyawo mu nsi gye yawa bajjajjaabo n'oddamu n'ogituulamu; era alikukola bulungi, alikwaza okusinga bajjajjaabo. Era Mukama Katonda wo aligonza omutima gwo n'ogw'ezadde lyo omwagalenga n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, olyoke obe omulamu. Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo, ne ku abo abaakukyawa era, abaakuyigganyanga. Era olikomawo n'ogondera eddoboozi lya Mukama, n'otuukiriza ebiragiro bye byonna, bye nkulagira leero. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'okola, olizaala abaana bangi n'ensolo zo ne zeyongera okwala era n'obaza ebirime. Mukama aliddamu okukusanyukira, nnaakuwa ggwe omukisa nga bwe yasanyukiranga bajjajjaabo; kasita oligondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, neweekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka; era n'ogondera Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna. Kubanga ekiragiro kino kye mbawa leero si kizibu nnyo okukyekuuma era tekiri wala. Tekiri mu ggulu olyoke oyogere nti, Ani anaatulinnyirayo akituleetere, atusobozese okukiwulira tulyoke tukyekuume? So tekiri mitala w'ennyanja n'okwogera n'oyogera nti Ani alituwungukira ennyanja, akituleetere, atusobozese okukiwulira tulyoke tukyekuume? Naye ekigambo kikuli kumpi nnyo, mu kamwa ko ne mu mutima gwo olyoke okituukirizenga. Laba, leero ntadde mu maaso go obulamu n'obulungi, okufa n'obubi; kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n'okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge, olyoke obenga omulamu ozaalenga oyalenga era Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu nsi gy'ogenda okutuulamu. Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n'ogaana okuwulira, naye n'osendebwasendebwanga n'osinzanga bakatonda abalala n'obaweerezanga; mbategeereza ddala leero nga temulirema kuzikirira; temuliwangaalira mu nsi gye mugenda okutuulamu nga mumaze okusomoka Yoludaani. Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa; kale londa obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo. Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga eddoboozi lye, wegattenga naye; kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaalakwo; olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira okuwa bajjajjaabo: Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Awo Musa n'agenda n'abuulira Isiraeri yenna ebigambo ebyo. N'abagamba nti, “Kaakano mpeza emyaka kikumi mu abiri (120); sikyasobola kubakulembera; era Mukama yaŋŋamba nti, ‘Tojja kusomoka Mugga guno Yoludaani.’ Mukama Katonda wammwe y'alibakulembera okusomoka; alizikiriza amawanga ago ne mugawangula nga mulaba, era Yoswa y'alibakulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera. Era Mukama aliwangula abantu abo nga bwe yawangula Sikoni ne Ogi, bakabaka ba b'Abamoli, n'ensi zaabwe. Abantu abo Mukama alibagabula gye muli, ne mubazikiririza ddala nga bwe nnabalagira. Mubeere n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temubatekemukira; kubanga Mukama Katonda wammwe ye nnyini ye aligenda nammwe; taabalekenga so taabaabulirenga. Awo Musa n'ayita Yoswa n'amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti, Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olikulembera abantu bano okugenda mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabwe okubawa; era ggwe olibasobozesa okugisikira. Era Mukama yennyini abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga; totya so totekemuka.” Awo Musa n'awandiika amateeka ago n'agakwasa bakabona abaana ba Leevi, abaasitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, wamu n'abakadde bonna aba Isiraeri. Musa n'abalagira ng'ayogera nti, “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka eky'okusonyiwa n'okusumululiramu ku mbaga Ey'ensiisira; Abaisiraeri bonna nga bazze mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, onoobasomeranga amateeka gano bagawulire. Okuŋŋaanyanga abantu bonna, abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne bannamawanga abali mu bibuga byo, bagawulire era bagayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bagonderenga ebigambo bino byonna amateeka gano bye galagira; era abaana baabwe abatannayiga mateeka, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda waabwe, ennaku zonna ze mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose Omugga Yoludaani.” Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, ennaku zo ez'okufa zisembedde; yita Yoswa, mweyanjule mu weema ey'okusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire.” Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu Weema ey'okusisinkanirangamu. Awo Mukama n'alabikira mu weema mu mpagi y'ekire: empagi y'ekire n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'eweema. Mukama n'agamba Musa nti, “Onootera okufa weegatte ku bajjajjaabo. Abantu bano tebaliba beesigwa gye ndi era balimenya endagaano gye nnakola nabo. Balindekawo ne basinza bakatonda ab'omu nsi gye bagenda okubeerangamu. Mu kiseera ekyo obusungu bwange ne bulyoka bubabuubuukirako, nange ndibaabulira ne mbekweeka ne bazikirira, balituukibwako ebizibu bingi n'okubonaabona kungi. Olwo lwe balitegeera nti ebizibu ebyo bibatuuseeko kubanga nze Mukama Katonda waabwe nnabaabulira. Era ndibakisiza ddala amaaso gange olw'ebibi byonna bye baliba bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala. Kale nno kaakano, wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isiraeri, balukwate lubeerenga omujulirwa gyebali. Kubanga bwe ndiba mbayingizza mu nsi gye nnalayirira bajjajjaabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe balirya ne bakkuta, ne bagejja; balikyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, era ne bamenya endagaano yange. Bwe banaabanga batuukibbwako akabi n'okubonaabona okungi, oluyimba luno lunaayimbibwanga, ne luba omujulizi abalumiriza, ne bazzukulu baabwe tebaalwerabirenga. Ne kaakano, wadde nga sinnabatwala mu nsi gye nnabalayirira okubawa, mmanyi kye balowooza okukola.” Awo Musa n'awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza abaana ba Isiraeri. Mukama n'alagira Yoswa omwana wa Nuuni ng'ayogera nti, “Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olituusa abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira; nange n'abeeranga wamu naawe.” Awo olwatuuka, Musa bwe yamalira ddala okuwandiika ebigambo eby'amateeka gano mu kitabo, Musa n'alagira Abaleevi, abaasitulanga essanduuko y'endagaano ya Mukama ng'ayogera nti, “Muddire ekitabo kino eky'amateeka, mukiteeke ku mabbali g'essanduuko y'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga omujulirwa gye muli. Mmanyi obujeemu n'obukakanyavu bwammwe, kubanga ne bwembadde nammwe nga nkyali mulamu mubadde mujeemera Mukama; kale temulyeyongera nnyo okumujeemera nga mmaze okufa” Musa n'alagira Abaleevi ng'agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abakadde n'abakulu b'ebika, n'abaami bammwe bonna ndyoke njogere ebigambo bino nga bawulira, era nkoowoola eggulu n'ensi okuba abajulirwa gyebali. Kubanga mmanyi nga bwe ndimala okufa, balyefuulira ddala babi, ne bagaana okukola bye mbalagidde. Era gye bujja, balituukibwako ebizibu, kubanga baliba basunguwazizza Mukama nga bakola by'alaba nga bibi.” Musa n'ayogera ebigambo by'oluyimba luno lwonna ng'abaana ba Isiraeri bonna bawulira. Wulira, ggwe eggulu, nange naayogera; N'ensi ewulire ebigambo by'akamwa kange. Okuyigiriza kwange kunaatonnya ng'enkuba, Okwogera kwange kunaagwa ng'omusulo; Ng'obukubakuba ku ssubi eggonvu, Era ng'oluwandaggirize ku muddo Kubanga nnaatenda erinnya lya Mukama: Ne njatula obukulu bwa Katonda waffe. Lwazi, omulimu gwe mutuukirivu; Asalawo obulungi ensonga; Katonda mwesigwa, w'amazima, Akola ebituufu eby'obwenkanya. Naye abantu be boonoonyi, era tebasaanidde kuba babe. Bafuuse ggwanga kkakanyavu, eryakyama. Bwe mutyo bwe musasula Mukama, Mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi? Ye Kitammwe eyabagula, n'abateekawo; n'abafuula eggwanga. Jjukira ennaku ez'edda, Lowooza emyaka emingi egiyise; Mubuuze bakitammwe, babalage; Bakadde bammwe bababuulire ebyaliwo. Ali waggulu ennyo bwe yawa amawanga obusika bwabwe, Bwe yayawula abaana b'abantu, Yassaawo ensalo z'amawanga Ng'omuwendo bwe gwali ogw'abaana ba Isiraeri. Kubanga Mukama ye nnyini yalonda abaana ba Yakobo, okuba omugabo gwe era obusika bwe. Yabasanga babungeetera mu ddungu, ekkalu kibuyaga mw'akuntira, N'abakuuma n'abalabirira, ng'omuntu bw'alabirira emmunye y'eriiso lye. Ng'empungu esaasaanya ekisu kyayo, Epaapaalira ku bwana bwayo, Yayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n'abatwala, N'abasitulira ku byoya bye. Mukama yekka ye yabakulembera, So tewaali katonda mulala eyamuyambako. Yabawa okutuula mu nsi ey'ensozi, Ne balya emmere ey'omunnimiro; Ne balya omubisi gw'enjuki okuva mu njazi, Ettaka ery'oluyinjayinja ne libaza emizeyituuni gyabwe. Yabawa omuzigo gw'ente n'amata okuva mu bisibo byabwe, N'amasavu g'endiga ez'e Basani, n'ennyama y'embuzi ensava, N'abawa n'eŋŋaano ennungi, n'omwenge ogw'emizabbibu omulungi; Naye Yesuluuni bwe yagaggawala n'ajeema; Mwagejjulukuka, ne munyirira, ne munneewulirirako; Ne muva ku Katonda eyabakola, Ne munyooma Olwazi olw'obulokozi bwammwe. Baamukwasanga obuggya nga baweereza bakatonda abalala, Baamusunguwazanga n'eby'emizizo. Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda, Bakatonda abatamanyiddwa, Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke, Bajjajjaabwe be batasinzanga. Lwazi eyabazaala temumujjukira, Era mwerabidde Katonda eyabazaala. Mukama bwe yakiraba n'asunguwala, N'atamwa batabani be ne bawala be. N'ayogera nti, Naabakisa amaaso gange, Ndiraba enkomerero yaabwe bw'eriba; Kubanga gye mirembe egy'ekyejo ekingi, Abaana omutali kukkiriza. Bankwasanga obuggya n'ekyo ekitali Katonda; Bansunguwazanga n'ebigambo byabwe ebitaliimu: Nange ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga; Ndibasunguwaza n'eggwanga essirusiru. Kubanga obusungu bwange bukoledde ng'omuliro, Bwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo, Era bwokya ensi n'ekyengera kyayo, Era bukoleeza ensozi we zisibuka. Ndibatuumako obubi; Ndimalira obusaale bwange ku bo: Balikoozimba n'enjala, n'omusujja omungi gulibazikirizza, Ensolo enkambwe ziribalya; N'ebyewalula eby'omu nfuufu eby'obusagwa biribazikiriza. Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa, Ne mu nnyumba entiisa en'ebabuutikiranga; Binaazikirizanga omulenzi era n'omuwala, Ayonka era n'omusajja ameze envi. N'ayogera nti, Nandibasaasaanyirizza wala, Nnandimazeewo okujjukirwa kwabwe mu bantu; Singa saatya kuvvoola kw'abalabe, Abaabakyawa baleme okwewaana, Baleme okwogera nti Omukono gwabwe guwangudde, Era Mukama si y'akoze bino byonna. Kubanga lye ggwanga eritalina magezi, So tebalina kutegeera mu bo. Singa balina magezi banditegedde ekyo, Ne balowooza enkomerero yaabwe ey'oluvannyuma! Omu yandigobye atya olukumi, N'ababiri bandiddusizza batya omutwalo, Lwazi waabwe singa teyabatunda, Era Mukama singa teyabaabulira? Kubanga olwazi lw'abalabe baffe teruliŋŋanga olwazi lwaffe, N'abalabe baffe bennyini ekyo bakimanyi. Kubanga omuzabbibu gwabwe gwava ku muzabbibu ogw'e Sodoma, Ne mu nnimiro ez'e Ggomola: Ezabbibu zaabwe zabbibu za mususa, Ebirimba byazo bikaawa: Omwenge gwabwe busagwa bwa misota, Era busagwa bukambwe bwa mbalasaasa. Katonda ky'ategekedde okukola Isiraeri n'abalabe be, ye akyesigalizza, Okuwalana kwange, n'okusasula, Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera; Kubanga olunaku lwabwe olw'okulaba ennaku luli kumpi, N'ebigenda okubajjira biryanguwa. Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango, Era alyejjusa olw'abaddu be; Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo, So tewali asigaddewo, oba musibe oba atali musibe. Era alyogera nti, Bakatonda baabwe bali ludda wa, Olwazi lwe beesiganga? Abaalyanga amasavu ag'essaddaaka zaabwe, Abaanywanga omwenge ogw'ekyo kye baawangayo eky'okunywa Bagolokoke bababeere, Babe ekigo kyammwe, Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo, So tewali katonda mulala Nze nzita, era nze mpa obulamu; Nfumise, era mponya; So tewali ayinza okubalokola okubaggya mu mukono gwange. Kubanga ngolola omukono gwange eri eggulu, Ne njogera nti Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna, Ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa, Mu buyinza bwange ndisala mazima Ndiwalana eggwanga ku balabe bange, Ndibonereza abo abankyawa. Obusaale bwange bulijjula omusaayi, N'ekitala kyange kirirya ennyama; awamu n'omusaayi ogw'abattiddwa n'abawambiddwa, N'emitwe gy'abakulembeze b'abalabe. Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n'abantu be; Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be, Era alibonereza abalabe be, Era aliwonya ensi ye, n'abantu be. Musa n'ajja ne Koseya, omwana wa Nuuni. Ne boogera ebigambo by'oluyimba luno byonna ng'abantu bawulira. Musa bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti, “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliyigiriza abaana bammwe, balyoke bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka ago n'okubituukirizanga. Kubanga ebigambo bino si bya kusaaga, naye bya bulamu bwammwe, bye biribawaangaliza mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose omugga Yoludaani.” Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti, “Yambuka mu nsozi za Abalimu, eziri mu nsi ya Mowaabu, olinnye ku lusozi Nebo, olw'olekedde Yeriko; olengere ensi ya Kanani gyempa abaana ba Isiraeri okuba obutaka bwabwe; ofiire ku lusozi lw'olinnyako, ogoberere bajjajjaabo, nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'agoberera bajjajjaabe abantu be: kubanga mwansobya ne munnyiiriza wakati mu baana ba Isiraeri, ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri; Olirengera bulengezi ensi gyempa abaana ba Isiraeri, naye ggwe toligiyingiramu.” Era guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isiraeri nga tannaba kufa. N'ayogera nti, “Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, Ng'ali wamu n'emitwalo gy'abatukuvu; N'omuliro ogwaka ku mukono gwo ogwa ddyo. Weewaawo, ayagala abantu be; Abatukuvu be bonna bali mu mikono gye. Ne batuula ku bigere bye Okuwulira ebigambo bye. Musa yatuwa amateeka, Bwe busika obw'ekibiina kya Yakobo. Mukama yali kabaka mu Yesuluni. Abakulembeze b'abantu, n'ebika byonna ebya Isiraeri bwe bakkuŋŋaana;” “Ab'ekika kya Lewubeeni babenga abalamu, balemenga okufa, Naye abantu be balemenga okwaala.” Ku kika kya Yuda n'ayogera nti, “Wulira, Mukama, eddoboozi lya Yuda, Omukomyewo mu baganda be; Nyweza emikono gye nga yeerwanirira, era omuwonye eri abalabe be. N'emikono gye yeerwanirira;” Ne ku Kika kya Leevi n'ayogera nti, “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe abasajja bo abatya Katonda, Be wakemera e Masa, Be wawakana nabo ku mazzi ag'e Meriba; Abaanywerera ku ggwe Okusinga ku bazadde baabwe, Ne ku baganda baabwe, ne ku baana baabwe. Baawulira ebiragiro byo, ne bakuuma endagaano yo. Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo, Ne Isiraeri banaamuyigirizanga amateeka go; Banaayoterezanga obubaane mu maaso go, Banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebiramba ku kyoto kyo. Ebintu byabwe, Mukama, biwenga omukisa, Okkirize omulimu gw'emikono gyabwe; Obetenterenga ddala abalabe baabwe, abo ababakyawa balemenga okuddamu okubalumba.” Ku kika kya Benyamini n'ayogera nti, “Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era anaabeeranga wakati mu bo.” Ne ku kika kya Yusufu n'ayogera nti, “Ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'omusulo omungi oguva mu ggulu, N'amazzi agava wansi mu ttaka.” N'ensi ye ebeeremu ebibala bingi ebyengezebwa enjuba, n'ebikungulwa bingi buli mwezi. Ensi ye ebeeremu eby'omuwendo omungi ebiva mu nsozi ez'edda, N'ebirungi ebiva mu busozi obutaggwaawo. Ensi ye eweebwe ebirungi bingi ebiweereddwa Mukama omukisa; Olw'ekisa ky'oyo eyayogera ng'asinziira mu kisaka ekyaka omuliro. N'omukisa gujje ku kika kya Yusufu, oyo eyaggyibwa mu baganda be okuba omukulembeze. Amaanyi ga Yusufu galinga ag'ente ennume embereberye; Era galinga ag'amayembe g'embogo; Aligatomeza amawanga n'agasindiikiriza ku nkomerero y'ensi; Efulayimu alivaamu emitwalo n'emitwalo; ne Manase enkumi n'enkumi; Ku kika kya Zebbulooni n'ayogera nti, “Sanyuka, Zebbulooni, mu kutambula kwo,” Ne ku kika kya Isakaali, n'ayogera nti, “sanyuka ng'oli mu weema zo.” Baliyita amawanga okujja ku lusozi lwabwe; Banaaweeranga eyo ssaddaaka ez'obutuukirivu; Balifuna obugagga obungi obuva mu nnyanja ne mu musenyu gwayo. Ne ku kika kya Gaadi n'ayogera nti, “Mukama alibakwatirwa ekisa; n'agaziya ensi yammwe, Mulyoke mumwebazenga. Alibwama ng'empologoma enkazi, n'ataagula omukono n'omutwe. Abakulembeze bwe bakuŋŋaana, yaweebwa ekitundu ekisinga obulungi eky'omugabo ogw'omukulembeze; N'atuukiriza ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge yawa Isiraeri.” Ne ku kika kya Ddaani n'ayogera nti, “Ddaani mwana wa mpologoma, Abuuka okuva mu Basani.” Ne ku kika kya Nafutaali n'ayogera nti, “Ggwe Nafutaali, Mukama akukwatiddwa ekisa, era akuwadde omukisa; Twala ensi ey'ebugwanjuba n'obukiika obwaddyo.” Ne ku kika kya Aseri n'ayogera nti, “Aseri aweebwe omukisa ogusinga ku gwa banne; Ayagalibwenga baganda be; Ensi ye eyazenga amafuta ag'emizeyituuni. Ebibuga bye biggalwenga enzigi ez'ekyuma n'ez'ekikomo. Abenga wa maanyi obulamu bwe bwonna.” “Ggwe Yesuluni, tewali afaanana Katonda, Eyeebagala ku ggulu n'ayita mu bbanga, Ng'ali mu kitiibwa ekingi, n'ajja okukuyamba. Katonda ataggwaawo kye kifo kyo ky'otuulamu, Era emikono gye egitaggwaawo gikuwanirira: yagoba abalabe okuva mu maaso go,” Naayogera nti, “Mubazikirize.” Era Isiraeri anaatuulanga mirembe, Abaana ba Yakobo banaabeeranga bokka, Mu nsi ey'eŋŋaano n'omwenge; Efukirirwa omusulo oguva mu ggulu. Olina omukisa, ggwe Isiraeri; Teri akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, Mukama ye ngabo yo era kye kitala kyo ekikutaasa, Era abalabe bo balikujeemulukukira; Naawe olibawangula. Awo Musa n'ava mu nsenyi z'e Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko. Mukama n'amulaga ensi yonna ey'e Giriyaadi okutuusa ku Ddaani; ne Nafutaali yonna, n'ensi ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja Eyawakati; n'Obukiika obwa ddyo, n'Olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko, ekibuga eky'enkindu, okutuusa ku Zowaali. Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo; ngikulengeza bulengeza naye tolisomoka kugendayo. Awo Musa omuddu wa Mukama n'afiira eyo mu nsi ey'e Mowaabu, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. Mukama n'amuziika mu kiwonvu, mu nsi ya Mowaabu okwolekera e Besupyoli; naye tewali muntu amanyi amalaalo ge gye gali okutuusa leero. Musa we yafiira yali awezezza emyaka kikumi mu abiri (120); eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko. Abaana ba Isiraeri ne bakungubagira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku asatu (30). Era Yoswa omwana wa Nuuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. Okuva olwo mu Isiraeri tewabangawo nnabbi afaanana Musa, Mukama gwe yamanya, n'ayogeranga naye nga balabagana maaso na maaso, n'akola obubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna. Era tewali nnabbi mulala yakola bya maanyi ebyo byonna era eby'entiisa eyo yonna nga Musa bye yakola ng'Abaisiraeri bonna balaba. Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama, bwe yamala okufa, Mukama n'agamba Yoswa, omwana wa Nuuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti, “Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri. Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnasuubiza Musa. Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba esalo yammwe. Tewalibeera muntu yenna aliyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo; nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olisobozesa abantu bano okusikira ensi eno gye nnalayirira okuwa bajjajjaabwe. Naye mala okuddamu amaanyi, n'okuguma ennyo omwoyo, weekuumenga okole ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange, ge yakulagira. Togaviirangako ddala n'akatono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna. Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoolezangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebikiwandiikiddwamu; kubanga bw'otyo bw'onooterezanga ekkubo lyo era bw'otyo bw'onooweebwanga omukisa. Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.” Yoswa n'alyoka alagira abakulembeze b'abantu nti, “Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu nti, ‘Mwetegekere emmere; kubanga mu nnaku ssatu mugenda kusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okubeeramu.’ ” Yoswa n'agamba ab'ekika kya Lewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase nti “Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabagamba, ng'ayogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky'okuwummula, era alibawa ensi eno.’ Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balisigala mu nsi eno Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye abasajja bonna abazira, abalwanyi, balisomoka nga bakutte eby'okulwanyisa byabwe nga bakulembeddemu baganda baabwe; okutuusa Mukama lw'alimala okuwa baganda bammwe ekiwummulo, awamu nammwe, olwo n'abo baatwale ensi Mukama, Katonda wammwe gy'abawa bo. Olwo ne mulyoka muddayo mu butaka bwammwe bwe mwafuna ebuvanjuba bw'Omugga Yoludaani, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.” Ne bamuddamu Yoswa nti, “Byonna by'otulagidde tulibikola, era buli gy'onootutumanga tunaagendanga. Nga bwe twawuliranga Musa mu bigambo byonna, naawe tunaakuwuliranga bwe tutyo; kyokka Mukama Katonda wo abe naawe, nga bwe yali ne Musa. Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga; naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.” Yoswa omwana wa Nuuni n'atuma abantu babiri mu nkiso okuva mu Sittimu, ng'ayogera nti, “Mugende, mukette ensi naddala Yeriko.” Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo. Kabaka w'e Yeriko ne bamubuulira, nga boogera nti, “Laba, wayingidde muno ekiro ku baana ba Isiraeri okuketta ensi.” Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti, “Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo; kubanga bazze okuketta ensi yonna.” Naye omukazi n'abatwala bombi, n'abakweka; n'ayogera nti, “Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nnabadde simanyi gye bavudde; awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda; abantu gye bazze simanyi, mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.” Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako obuti obw'obugoogwa, bwe yali ateeseteese obulungi ku kasolya. Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko, abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki. Bo nga tebanneebaka, n'alinnya gyebali ku kasolya; n'agamba abantu nti, “Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna batekemuse ku lwammwe. Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi, be mwazikiririza ddala. Naffe bwe twakiwulira, emitima gyaffe ne giryoka gitekemuka, so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna, ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi. Kale kaakano, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi, nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero akankakasa ekyo, era n'okuwonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange ne byonna bye balina, n'okulokola obulamu bwaffe mu kufa.” Abantu ne bamugamba nti, “Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe! bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino, awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.” Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwataganye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeeranga ku bbugwe. N'abagamba nti, “Mugende ku lusozi, ababagoberedde baleme okubasanga; era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa ababagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.” Abantu ne bamugamba nti, “Tetulimenya kirayiro kyo kino ky'otulayizizza. Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu; era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo. Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango; era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango, era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna. Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino, tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.” N'ayogera nti, “Ng'ebigambo byammwe bwe biri, kibeere bw'ekityo.” N'abasindika, ne bagenda, n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa. Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo, kubanga, abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba. Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako. Ne bamugamba Yoswa nti, “Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna batekemukira ddala mu maaso gaffe.” Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka. Oluvannyuma lwe nnaku ssatu abakulembeze ne bayita wakati mu lusiisira; ne balagira abantu, nga boogera nti, “Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera. Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo, ng'emikono enkumi bbiri (2,000) egigerebwa, temugisemberera, mulyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okutuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino.” Yoswa n'agamba abantu nti, “Mwetukuze, kubanga enkya Mukama anaakola eby'amagero mu mmwe.” Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti, “Musitule essanduuko ey'endagaano, musomoke mukulembere abantu.” Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Leero n'atanula okukugulumiza mu maaso g'Abaisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe. Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti, ‘Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu mazzi ago.’ ” Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Mujje wano, muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe.” Yoswa n'ayogera nti, “Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi. Laba, essanduuko ey'endagaano ya Mukama w'ensi zonna, ebakulembera okusomoka Yoludaani. Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri (12) mu bika bya Isiraeri, buli kika omu. Awo, ebigere bya bakabona abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gayimirizibwa okukulukuta, amazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.” Awo, abantu bwe baava mu weema zaabwe, okusomoka Yoludaani, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano nga bakulembedde abantu; era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula), amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne getuuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani; n'ago agakka ku nnyanja ey'e Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko. Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonna ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani. Awo eggwanga lyonna bwe lyamala okuyitira ddala mu Yoludaani, Mukama n'agamba Yoswa, ng'ayogera nti, “Mwerondere abasajja kkumi na babiri (12), mu buli kika omu, era mubalagire, balonde amayinja kkumi n'abiri (12) wakati mu Yoludaani, mu kifo kye nnyini bakabona we baayimiridde mugatwale mugateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kino.” Awo Yoswa n'ayita abasajja kkumi na babiri (12), be yateekateeka mu baana ba Isiraeri, mu buli kika omu; Yoswa n'abagamba nti, “Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, buli muntu mu mmwe asitule ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli. Ako kabeere akabonero mu mmwe, abaana bammwe bwe banaabuuzanga mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti, ‘Amayinja gano amakulu gaago ki? ’ ” “Kubanga amazzi ga Yoludaani gaavaawo ne gasegulira essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yayita mu Yoludaani; era amayinja gano galibeera ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo.” Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira, ne balonda amayinja kkumi n'abiri (12) wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagateeka mu kifo mwe baasula. Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira; era weegali ne kaakano. Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira Yoswa; abantu ne banguwa okusomoka. Awo, abantu bonna bwe baamala okusomoka bakabona abaali n'Essanduuko ya Mukama nabo ne balyoka basomoka, ne batambula ne bakulemberamu abantu. Abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri nga bakutte eby'okulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba; abantu ng'emitwalo ena (40,000) abeeteeseteese okulwana olutalo ne bayita mu maaso ga Mukama mu lusenyi olw'e Yeriko. Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso g'Abaisiraeri bonna; ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa, ennaku zonna ez'obulamu bwe. Mukama n'agamba Yoswa ng'ayogera nti, “Lagira bakabona abasitula essanduuko ey'obujulirwa bambuke okuva mu Yoludaani.” Awo Yoswa n'alagira bakabona ng'ayogera nti, “Mwambuke muve mu Yoludaani.” Awo, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe baamala okwambuka okuva mu Yoludaani; n'ebigere bya bakabona bwe byalinnya ku lukalu, amazzi ga Yoludaani, ne gaddamu okukulukuta n'okwanjaala ku mbalama zaagwo ng'edda. Abantu ne basomoka Yoludaani ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogwolubereberye, ne basula e Girugaali mu buvanjuba bwa Yeriko. N'amayinja gali ekkumi n'abiri (12) ge baggya mu Yoludaani, Yoswa n'agasimba mu Girugaali. N'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nti, ‘Amakulu g'amayinja gano ki?’ ne mulyoka mutegeezanga abaana bammwe, nga mwogera nti, ‘Abaisiraeri baasomoka omugga guno Yoludaani nga mukalu.’ Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okusomoka, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe, okutuuka bwe twamala okusomoka, amawanga gonna ag'ensi galyoke gamanye omukono gwa Mukama nga gwa maanyi; batyenga Mukama Katonda wammwe emirembe egitaggwaawo.” Awo, bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne bakabaka ab'Abakanani, abaali ku lubalama lw'ennyanja Eyawakati, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani okutuusa abaana ba Isiraeri lwe baamala okusomoka, ne batekemuka ne baggwamu amaanyi olw'abaana ba Isiraeri. Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti, “Kola obwambe obw'amayinja, okomole abaana ba Isiraeri abatakomolebwanga.” Yoswa n'akola obwambe obw'amayinja, n'akomolera abaana ba Isiraeri ku lusozi, olw'ebikuta. Eno ye nsonga Yoswa kye yava akomola abasajja; kubanga abasajja bonna abalwanyi abava mu Misiri nga bakomole baafiira mu kkubo mu ddungu nga bava e Misiri. Naye abantu bonna abaazaalirwa mu kkubo mu ddungu nga bava e Misiri baali tebakomolwanga. Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka ana (40) mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi bonna abaava e Misiri, lwe baggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama. Mukama kye yava alayira obutabaganya kulaba nsi gye yalayira bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki. Era baali baana baabwe be yazza mu kifo kyabwe, abo Yoswa be yakomola; kuba baali si bakomole, olw'okuba tebaabakomolera mu kkubo. Awo, bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, ne babeera mu bifo byabwe mu lusiisira okutuusa lwe bamala okuwona. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Leero mbaggyeeko ekivume eky'e Misiri.” Erinnya ery'ekifo ekyo kyeryava liyitibwa Girugaali n'okutuusa kaakano. Abaana ba Isiraeri bwe baali baasisidde e Girugaali, ne baakwata Okuyitako olw'eggulo ku lunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi mu lusenyi olw'e Yeriko. Ku lunaku olwaddirira Okuyitako ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukusiddwa ne kasooli omusiike. Awo bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwako; emmaanu n'erekera awo okugwa; awo ne batandika okulya emmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo. Awo, Yoswa bwe yali ng'asemberedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, omusajja ng'ayimiridde okumwolekera, ng'alina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amubuuza nti, “Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?” Omusajja n'amuddamu nti, “Nedda; naye nze omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano.” Yoswa n'afukamira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti, “Mukama wange, kiki ky'ogamba omuddu wo?” Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti, “Ggyamu engato mu bigere byo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu.” Yoswa n'akola bw'atyo. Yeriko kyali kiggaliddwawo ddala olw'okutya abaana ba Isiraeri; tewaali afuluma, newakubadde ayingira. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko nkikuwadde mu mukono gwo, ne kabaka waamu, n'abazira ab'amaanyi. Era mulikyetooloola ekibuga, abalwanyi mwenna, nga mukyetooloola omulundi gumu buli lunaku. Bw'onookolanga bw'otyo okumala ennaku mukaaga. Ne bakabona omusanvu balisitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bakulembedde essanduuko. Ku lunaku olw'omusanvu mulyetooloola ekibuga emirundi musanvu, nga bakabona bafuuwa eŋŋombe. Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez'amayembe ag'endiga ensajja, era bwe muliwulira eddoboozi ery'eŋŋombe, abantu bonna ne balyoka baleekaanira waggulu n'eddoboozi eddene; bbugwe w'ekibuga n'agwiira ddala wansi, olwo eggye lyonna ne liyingira butereevu mu kibuga.” Awo Yoswa, omwana wa Nuuni, n'ayita bakabona, n'abagamba nti, “Musitule essanduuko ey'endagaano, era bakabona omusanvu basitule eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja bakulembere essanduuko ya Mukama.” N'agamba abantu nti, “Mutambule, mwetooloole ekibuga, n'abalina eby'okulwanyisa bakulembere essanduuko ya Mukama.” Awo, Yoswa bwe yamala okwogera n'abantu, bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja mu maaso ga Mukama ne batambula nga bafuuwa eŋŋombe; essanduuko ey'endagaano ya Mukama ng'ebavaako emabega. Abalina eby'okulwanyisa ne bakulembera bakabona abaafuuwa eŋŋombe, ab'emabega ne bagoberera essanduuko, nga bafuuwa eŋŋombe. Yoswa n'alagira abantu nti, “ Temuleekaana n'eddoboozi lyammwe lireme okuwulirwa, n'ekigambo kyonna kireme okuva mu kamwa kammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira okuleekaana; ne mulyoka muleekaana.” Bwe batyo ne beetoolooza essanduuko ya Mukama ekibuga omulundi gumu. Ne baddayo mu lusiisira lwabwe ne basula omwo. Olunaku olwokubiri ku makya Yoswa n'agolokoka, ne bakabona ne basitula essanduuko ya Mukama. Ne bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja ne bakulembera essanduuko ya Mukama, nga bafuuwa eŋŋombe obutasalako; n'abalina eby'okulwanyisa nga babakulembedde. N'abaali emabega w'Essanduuko ya Mukama ne bafuuwa eŋŋombe nga batambula. Ku lunaku olwo olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga. Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera enkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bulijjo. Naye ku lunaku olwo lwokka lwe beetooloola ekibuga emirundi omusanvu. Awo ku mulundi ogw'omusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti, “Muleekaane; kubanga Mukama abawadde ekibuga. Ekibuga ne byonna ebikirimu biweereddwayo eri Mukama bizikirizibwe; okuggyako Lakabu omwenzi ne bonna abali awamu naye mu nnyumba ye be baliwona, kubanga Lakabu yakweka abakessi be twatuma. Nammwe mwewalire ddala okutwala ku biweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme okuleetera olusiisira lwa Isiraeri emitawaana n'okuzikirizibwa. Naye effeeza yonna n'ezaabu, n'ebintu eby'ebikomo n'eby'ebyuma, bye bitukuvu eri Mukama; birireetebwa ggwanika lya Mukama.” Awo bwe baafuuwa eŋŋombe, abantu ne bawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, ne baleekaana n'eddoboozi eddene, bbugwe n'agwiira ddala wansi, eggye lyonna neriyingira butereevu mu kibuga. Ne bazikiririza ddala ebyali mu kibuga byonna, abasajja n'abakazi, abato n'abakulu, n'ente, n'endiga, n'endogoyi, ne babitta n'ekitala. Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaaketta ensi nti, “Mugende mu nnyumba ey'omukazi omwenzi, mumufulumye n'abantu be bonna ne by'alina byonna nga bwe mwamulayirira.” Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bafulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina, ne baganda be, n'ekika kye kyonna, ne byonna by'alina; ne babafulumya, ne babateeka ebweru mu lusiisira lwa Isiraeri. Ekibuga ne bakyokya omuliro, n'ebyalimu byonna; naye effeeza n'ezaabu n'ebintu eby'ekikomo, n'eby'ebyuma byonna baabissa mu ggwanika ery'ennyumba ya Mukama. Naye Yoswa n'awonya Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe, ne byonna bye yalina. Lakabu n'abeera wakati mu Isiraeri, okutuusa kaakano; kubanga yakweka abakessi, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko. Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti, “Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko.” “Buli alissaawo omusingi gwakyo, alifiirwa omwana we omuggulanda. Buli aliwangamu enzigi zaakyo, alifiirwa omwana we omuggalanda.” Bw'atyo Mukama yabeeranga ne Yoswa; n'ayatiikirira mu nsi yonna. Naye abaana ba Isiraeri ne boonoona bwe baamenya ekiragiro kya Mukama eky'obutatwala ku bintu ebyali eby'okuzikirizibwa; kubanga Akani, mutabani wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera, ow'omukika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyali eby'okuzikirizibwa; obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku baana ba Isiraeri. Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda okuketta ekibuga Ayi, ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba bwa Beseri, n'abagamba nti, “Mugende mukette ekitundu ekyo.” Abantu ne bagenda ne baketta Ayi. Awo ne bakomawo eri Yoswa, ne bamugamba nti, “Abantu bonna tekibeetaagisa kugendayo, wabula abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu (2,000 oba 3,000), bagende bakirumbe bakikube. Toteganya bantu bonna kugendayo, kubanga abaayo batono.” Awo abalwanyi ng'enkumi ssatu (3,000), ne bagenda ne balumba Ayi, naye ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi. Abasajja ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'asatu mu mukaaga (36), ne babagoba okubaggya ku wankaaki w'ekibuga okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa, emitima gy'Abaisiraeri ne giterebuka, ne giba ng'amazzi. Awo Yoswa n'ayuza engoye ze, n'agwa ne yeevuunika awali essanduuko ya Mukama n'atuusa olw'eggulo, ye n'abakadde ba Isiraeri; ne beesiiga enfuufu ku mitwe gyabwe. Yoswa n'akaaba nti, “Woowe, ayi Mukama Katonda, lwaki wasomosa abantu bano omugga Yoludaani, okutuwaayo eri Abamoli okutuzikiriza? Singa twasigala emitala wa Yoludaani! Ayi Mukama, naayogera ntya, ng'Abaisiraeri bamaze okudduka abalabe baabwe? Kubanga Abakanani n'abali mu nsi bonna bwe banaakiwulira, banaatuzingiza, ne batusaanyawo okuva ku nsi. Kale onookola otya okukuuma ekitiibwa ky'erinnya lyo?” Mukama n'agamba Yoswa nti, “Situka; kiki ekikwevuunisizza bw'otyo? Abaisiraeri boonoonye; era bamenye endagaano yange gye nnabalagira; batutte ku bintu ebiteekwa okuzikirizibwa. Babbye, bakuusizzakuusizza, era babikwese mu bintu byabwe. Ekyo kye kibalobera abaana ba Isiraeri okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe, ne babadduka, kubanga bafuuse baakuzikirizibwa. Sijja kuddayo kubeera nammwe wabula nga muzikirizza ekyo kye mugugubiddeko. Kale, mutukuze abantu, mubagambe beetukuze, beeteekereteekere olunaku olw'enkya,” kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, “Wakati mu ggwe waliwo ebintu bye nnabalagira okuzikiriza bye mukwese mu byammwe. Temuyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bammwe nga temunnabiggyayo kubizikiriza.” Kale enkya munaasembeza abantu mu bika byammwe; ekika Mukama ky'anaalondamu kinaasembera ng'enda zaakyo bwe ziri; n'enda Mukama gy'anaalondamu eneesembera nga ennyumba zaayo bwe ziri; n'ennyumba Mukama gy'anaalondamu eneesembera buli muntu kinnoomu. Awo olunaatuuka omuntu anaalondebwa mu nnyumba eyo n'asangibwa ng'akwese ekyo Mukama kye yalagira okuzikiriza, anaayokebwa omuliro ne by'alina byonna; kubanga anaaba amenye endagaano ya Mukama, era ng'akoze eky'obusirusiru mu Isiraeri. Awo Yoswa n'agolokoka enkya ku makya, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; ekika kya Yuda ne kirondebwamu; Mu kika kya Yuda ne mulondebwamu Enda ya Bazera; n'esembezebwa buli muntu kinnoomu; Zabudi n'alondebwamu. Ennyumba ya Zabudi n'esembezebwa buli muntu kinnoomu. Ne Akani Mutabani wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera mu kika kya Yuda n'alondebwamu. Yoswa n'agamba Akani nti, “Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri, omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa.” Akani n'addamu Yoswa n'ayogera nti, “Mazima nnyonoonye eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, era kino kye nnakola, bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza bibiri (200), n'ekitole ekya zaabu ekigero kyakyo sekeri ataano (50), ne mbiyaayaanira ne mbitwala ne mbikweka mu ttaka wakati mu weema yange; ng'effeeza eri wansi wabyo.” Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani; ne basanga ng'ebintu ebyo bikwekeddwa mu weema ye, ng'effeeza y'eri wansi. Nabo ne babiggya yo wakati mu weema, ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama. Awo Yoswa, n'Abaisiraeri bonna, ne batwala Akani, muzzukulu wa Zeera, n'effeeza, n'ekyambalo, n'ekitole kya zaabu, n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze, n'endiga ze, n'eweema ye, ne byonna bye yalina; ne babatwala mu kiwonvu Akoli. Yoswa n'ayogera nti, “ Lwaki watuleetera emitawaana? Kaakano naawe Mukama anaakuleetako emitawaana.” Awo Abaisiraeri bonna ne bakuba Akani, n'ab'omunnyumba ye bonna amayinja; Ne bamutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano; ekiwonvu ekyo kye kyava kiyitibwa Akoli, ne leero. Mukama n'akyuka n'aleka obusungu bwe obukambwe. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Totya, so toterebuka; twala abalwanyi bonna olumbe Ayi. Nkuwadde okuwangula kabaka w'e Ayi n'abantu be, n'ekibuga kye, n'ensi ye; era olikola Ayi ne kabaka waamu nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waamu. Naye omunyago gwakyo awamu n'ente zaakyo mulibyetwalira okuba omunyago gwammwe. Muteegere ekibuga emabega waakyo.” Awo Yoswa n'abalwanyi be bonna ne bagenda okulumba Ayi; Yoswa n'alonda abalwanyi, abazira, emitwalo esatu (30,000), n'abasindika ekiro. N'abalagira nti, “Laba munaategeera ekibuga emabega waakyo, naye nga temuli wala nakyo, mwetegeke mwenna okulumba. Nze n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga; awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye, ne tulyoka tudduka okuva mu maaso gaabwe; Bajja kutuwondera okutuusa nga tumaze okubasendasenda beesuule nnyo ekibuga. Bajja kulowooza nti tubadduse nga bwe twakola olwasooka; nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne muwamba ekibuga; kubanga Mukama Katonda wammwe anaakibawa ne mukiwangula. Awo, bwe munaamala okuwamba ekibuga, ne mu kyokya omuliro nga Mukama bwe yabagamba. Nze mbalagidde.” Yoswa n'abasindika; ne bagenda we banaateegera, ne babeera wakati wa Neseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'e Ayi; naye ekiro ekyo, Yoswa n'asula n'abantu mu lusiisira. Yoswa n'akeera enkya n'akuŋŋaanya abantu wamu n'abakadde ba Isiraeri, n'abakulembera ne bagenda e Ayi. Abalwanyi bonna abaali naye, ne basembera mu maaso g'ekibuga ne basiisira ku luyi olw'obukiikakkono obwa Ayi; nga waliwo ekiwonvu wakati waabwe ne Ayi. N'atwala abantu ng'enkumi ttaano (5,000), n'abateekateeka ne bategeera wakati wa Beseri ne Ayi, ku luuyi lw'ekibuga olw'ebugwanjuba. Bwe batyo bwe baateekateeka abalwanyi, eggye eddene lyali mu bukiikakkono obw'ekibuga, ate n'abateezi baabwe nga baali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa ye, n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu. Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yalaba abalwanyi ba Yoswa, ye n'abantu be bonna ab'omukibuga ne bayanguwa ku makya okugenda okulwana ne Yoswa n'abalwanyi be abaali mu kiwonvu Alaba. Naye Kabaka teyamanya nti waaliwo abaali bamuteeze emabega w'ekibuga. Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne beefuula ng'ababatidde ne baddukira mu kkubo ery'eddungu. N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okubawondera. Ne bagoba Yoswa; naye ne yeyongerayo okutuusa lwe beesuulira ddala ekibuga. Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, ataagenda kugoba Isiraeri; ekibuga ne kisigala nga kiggule. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga nnaakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga.” Yoswa bwe yamala okugalula omuwunda, abateezi ne bafubutuka okuva we baali bateegedde, ne bayingira ekibuga, ne bakimenya mangu ne bakyokya omuliro. Ab'e Ayi, abaali bagoba Yoswa, bwe baatunula emabega waabwe, ne balaba omukka oguva mu kibuga nga gunyookera mu bbanga ne baggwamu amaanyi nga tebalina wakuddukira. Awo Abaisiraeri be baali bagoba ne babakyukira okubalumba. Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi baabwe bamenye ekibuga, nga n'omukka gunyooka mu kibuga awo nabo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi. Abaisiraeri abaali mu kibuga ne bavaayo okubalumba; Abe Ayi ne babeera wakati mu ba Isiraeri eruuyi n'eruuyi; ne babakuba, obutaganya muntu n'omu okusigalawo newakubadde okudduka. Kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa. Awo, Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala ab'e Ayi abaali babawondedde mu ddungu ne baggweerawo ddala, ne balyoka bakomawo mu kibuga ne batta bonna abaali basigaddewo. Abantu bonna abaali mu Ayi, abasajja n'abakazi abattibwa ku lunaku olwo, baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Yoswa teyassa mukono gwe, gwe yagaluza omuwunda okutuusa lwe yamala okuzikiririza ddala abantu bonna abaali mu Ayi. Wabula ente n'ebintu ebirala byonna Abaisiraeri bye baggya mu kibuga, ne babyetwalira okuba omunyago ng'ekigambo kya Mukama kye yalagira Yoswa bwe kyali. Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akireka nga matongo, ne kaakano. Yoswa n'awanika kabaka we Ayi ku muti, okutuusa enjuba bwe yagwa. Awo n'alagira omulambo gwe okuggyibwa ku muti, ne bagusuula ku wankaaki w'ekibuga ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano. Awo Yoswa n'alyoka azimbira Mukama, Katonda wa Isiraeri ekyoto ku lusozi Ebali. N'akizimba ng'agoberera ebiragiro bya Musa omuweereza wa Mukama, bye yawa abaana ba Isiraeri, era nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka ga Musa nti, “Ekyoto kinaazimbibwanga n'amayinja amalamba agatayasibbwangako na kyuma kyonna.” Awo ne balyoka bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, n'ebiweebwayo eby'emirembe. Awo Yoswa n'awandiika ku mayinja ago amateeka ga Musa ng'abaana ba Isiraeri balaba. Awo abaana ba Isiraeri bonna, enzaalwa ne bannamawanga ababeera mu bo, n'abakadde baabwe, n'abaami, n'abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi lw'Essanduuko, nga batunuulidde bakabona Abaleevi, abasitudde Essanduuko eyo ey'Endagaano ya Mukama. Ekitundu kyabwe ekimu eky'okubiri, baayimirira nga batunuulidde olusozi Gerizimu, n'ekitundu ekirala nga batunuulidde olusozi Ebali. Bw'atyo Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira okusookanga okukola, nga bagenda okusabira abantu ba Isiraeri omukisa. Oluvannyuma Yoswa n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimirwa, nga byonna bwe byawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka. Tewaali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasomera kibiina ky'abaana ba Isiraeri, omwali abakazi, abaana, ne bannamawanga abaatambuliranga mu bo. Awo, bakabaka bonna abaali emitala wa Yoludaani, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsenyi, ne ku lubalama lwonna olw'ennyanja Ennene, olusozi Lebanooni gye lusimba, Abakiiti, n'Abamoli, n'Abakanani, n'Abaperizi, n'Abakiivi, n'Abayebusi, bwe baawulira obuwanguzi bwa Yoswa; ne balyoka bakuŋŋaanira wamu, okulwanyisa Yoswa n'Abaisiraeri, n'omwoyo gumu. Naye abaali mu Gibyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku Yeriko ne Ayi, ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa; n'engatto enkadde ezibotose mu bigere byabwe, era nga bambadde ebyambalo ebikadde; n'emmere yonna ey'entanda yaabwe ng'ekaliridde ng'ekutte obukuku. Ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Girugaali, ne bamugamba ye n'abantu ba Isiraeri nti, “Tuvudde mu nsi ye wala; kale kaakano mulagaane naffe.” N'abantu ba Isiraeri ne bagamba Abakiivi nti, “Wozzi ewammwe muli wakati wansi yaffe; naffe tunaalagaana tutya nammwe?” Ne baddamu nti, “Tuli baddu bo.” Yoswa n'ababuuza nti, “Mmwe baani, era muva wa?” Ne bamugamba nti, “Abaddu bo bavudde mu nsi y'ewala nnyo okujja wano. Kubanga twawulira ettutumu lya Mukama Katonda wo, ne byonna bye yakola mu Misiri, ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka we Kesuboni, ne Ogi kabaka we Basani, eyali mu Asutaloosi. Awo bakadde baffe n'abantu bonna ab'omu nsi yaffe ne batugamba nti ‘musibire olugendo luno entanda, mugende mu maaso gaabwe mubagambe nti, Tuli baddu bammwe, kale kaakano mukole naffe endagaano ey'emirembe.’ Emmere yaffe eno ey'entanda twagisiba ng'ekyabuguma mu nnyumba zaffe ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n'obukuku; n'amaliba gano ag'omwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise; n'ebyambalo byaffe bino n'engatto zaffe bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo.” Abaisiraeri ne balya ku ntanda yaabwe, naye ne batabuuza kuluŋŋamizibwa kuva eri Mukama. Yoswa n'abakulu b'ekibiina ne bakola nabo endagaano ey'emirembe ne babalayirira obutabatta. Awo bwe waayitawo ennaku ssatu (3) nga bamaze okukola endagaano eyo, Abaisiraeri ne bawulira ng'abantu abo baliraanwa baabwe ab'okumpi ddala. Abaana ba Isiraeri ne batambula, ne ku lunaku olwokusatu (3) ne batuuka mu bibuga byabwe. Ebibuga byabwe byali Gibyoni, Kefira, Beerosi, ne Kiriyasuyalimu. N'abaana ba Isiraeri ne batabatta, kubanga abakulu b'ekibiina baali babalayiridde eri Mukama Katonda wa Isiraeri. Ekibiina ky'Abaana ba Isiraeri kyonna ne kyemulugunyiza abakulu baabwe. Naye abakulu bonna ne baddamu ekibiina kyonna nti, “Abantu abo twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri; kale kaakano tetuuyinze kubakolako kabi. Tubaleke nga balamu, kubanga twabalayirira, Mukama aleme okutusunguwalira.” Abakulu ne bagamba ekibiina nti, “Mubaleke nga balamu; baasenga enku era bakimirenga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri amazzi.” Yoswa n'abayita n'ababuuza nti, “Lwaki mwatulimba nga mwogera nti, ‘Tuva wala nnyo so ng'ate muli ba wano kumpi?’ Kale kaakano mukolimiddwa, abantu bammwe banaabanga baddu ennaku zonna, abaasi b'enku era abakimi b'amazzi eri ennyumba ya Katonda wange.” Ne bamuddamu Yoswa nti, “Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi eno yonna, n'okuzikiriza bonna abagirimu; kyetwava tutya okututta, ne tukola bwe tutyo. Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo; tukole kyonna ky'olaba nga kirungi era nga kye kituufu.” Era bw'atyo bwe yabakola, n'abawonya mu mukono gw'abaana ba Isiraeri okubatta. Ku lunaku olwo Yoswa n'abafuula abaasi b'enku era abakimi b'amazzi eri ekibiina n'eri ekyoto kya Mukama, ne mu kifo ekirala kyonna ky'anaabalagiranga. Ogwo gwe mulimu gwabwe ne kaakano. Awo, Adonizedeki kabaka w'e Yerusaalemi bwe yawulira engeri Yoswa gye yamenya Ayi, era n'akizikiririza ddala, era n'akola Ayi ne kabaka wakyo; kye yakola Yeriko ne kabaka waamu, era n'awulira nti abantu b'e Gibyoni baalagaana n'Abaisiraeri endagaano ey'emirembe era nga babeera mu bo. Kabaka n'abantu be, ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng'ebibuga bya bakabaka bwe byali, era nga kyali kisinga Ayi obunene, n'abantu baayo bonna baali bazira. Adonizedeki, kabaka w'e Yerusaalemi, kyeyava atumira Kokamu, kabaka w'e Kebbulooni, Piramu, kabaka w'e Yalamusi, Yafiya, kabaka w'e Lakisi, ne Debiri, kabaka w'e Eguloni, ng'ayogera nti, “Mujje munnyambe tukube Gibyoni; kubanga abaayo baalagaana endagaano ey'emirembe ne Yoswa n'abaana ba Isiraeri.” Awo bakabaka abataano ab'Abamoli, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w'e Kebbulooni, kabaka w'e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, ne kabaka w'e Eguloni, ne begatta wamu ne batwala eggye lyabwe lyonna, ne basiisira okwebungulula Gibyoni bakirwanyise. N'ab'e Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekerera, jjangu mangu otudduukirire, otuwonye, kubanga bakabaka bonna ab'Abamoli abatuula mu nsi ey'ensozi batulumbye okutuzikiriza.” Awo Yoswa n'ava e Girugaali n'ajja ng'ali n'abalwanyi be bonna, abazira abamaanyi. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Tobatya; kubanga mbakuwadde mu mikono gyo, tewaabe muntu mu bo anaayimirira mu maaso go.” Awo Yoswa najja mangu gyebali, ng'atambudde ekiro kyonna okuva e Girugaali. Mukama n'aleetera Abamoli encukwe mu maaso ga Isiraeri, ne battira ddala bangi, mu bo e Gibyoni; abaasigalawo ne babawondera mu kkubo eryambuka e Besukolooni, ne babakuba okutuusiza ddala e Azeka n'e Makedda. Awo, Abamoli bwe baali nga badduka Abaisiraeri, Mukama n'atonnyesa amayinja amanene ag'omuzira, ne gabakuba. Abattibwa amayinja ago ag'omuzira, ne basinga obungi abo abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala. Awo Yoswa n'ayogera ne Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti, “Ggwe enjuba yimirira waggulu wa Gibyoni; Naawe omwezi, yimirira waggulu w'ekiwonvu Ayalooni.” Enjuba n'eyimirira, Omwezi ne gulinda, Okutuusa eggwanga lwe lyamala okuwangula abalabe baalyo. Kino kyawandiikibwa mu Kitabo kya Yasali. Enjuba yalindira ku ggulu wakati, n'etayanguyiriza kugwa, okumala ng'olunaku lulamba. Tewabangawo lunaku era tewaliba lulala olwenkana ng'olwo, Mukama okuwulira omuntu; kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri. Ebyo bwe byaggwa, Yoswa n'akomawo n'Abaisiraeri bonna mu lusiisira e Girugaali. Awo bakabaka abo abataano (5) ne badduka, ne beekweka mu mpuku e Makkeda. Ne babuulira Yoswa nti, “Bakabaka abataano (5) tubalabye, nga beekwese mu mpuku e Makkeda.” Yoswa n'ayogera nti, “Muyiringisirize amayinja amanene ku mulyango gw'empuku, mugiteekeko abantu bagikuume; naye mmwe temulinda; muwondere abalabe bammwe, mubakube nga mubava emabega; temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mmwe okubawangula.” Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri ne batta abantu bangi nnyo, kumpi kubamalirawo ddala, okuggyako abo abaayingira mu bibuga ebiriko ebigo. Awo abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa e Makkeda n'emirembe; tewaali muntu n'omu mu nsi eyo eyaguma okwogera obubi ku baana ba Isiraeri. Awo Yoswa n'alyoka agamba nti, “ Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano (5).” Ne bakola bwe batyo, ne baggyamu bakabaka bali abataano (5) ne babamuleetera, ow'e Yerusaalemi, ow'e Yalamusi, ow'e Lakisi, n'ow'e Eguloni. Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abakulembeze ab'abalwanyi abaagenda naye nti, “Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano.” Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe. Yoswa n'abagamba nti, “Temutya, so temukankana; muddemu amaanyi, mugume omwoyo; kubanga Mukama bw'alibakola bw'atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo.” Oluvannyuma Yoswa n'abafumita, n'abatta, n'abawanika ku miti etaano okutuusa olweggulo. Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne baggya emirambo gyabwe ku miti, ne bagisuula mu mpuku mwe baali beekwese olubereberye, ne bateeka amayinja amanene ku mulyango gw'empuku, agakyaliwo ne kaakano. Yoswa n'amenya Makkeda ku lunaku olwo, n'akizikiriza ne kabaka waamu n'amutta n'obwogi bw'ekitala; n'azikiririza ddala abantu bonna abaakirimu, n'atalekawo n'omu, n'akola kabaka w'e Makkeda nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko. Awo Yoswa n'ava e Makkeda n'Abaisiraeri bonna, n'alumba Libuna okulwana nakyo. Mukama nakyo n'akiwaayo, ne bakiwangula ne kabaka waamu; ne batta bonna abaakirimu obutasigalamu muntu n'omu. Yoswa n'akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko. Yoswa n'ava e Libuna, n'alumba Lakisi n'akyebungulula n'akirwanyisa. Era Mukama n'awaayo, Lakisi mu mukono gwa Isiraeri, Yoswa n'akiwangula ku lunaku olwokubiri; n'atta abantu bonna abaakirimu n'ekitala, nga bwe yakola Libuna. Kolamu kabaka w'e Gezeri, n'ajja okuyamba Lakisi; Yoswa n'amukuba n'abantu be bonna obutalekaawo n'omu. Awo Yoswa n'Abaisiraeri bonna, ne bava e Lakisi ne balumba Eguloni ne bakyebungulula ne bakirwanyisa; ne bakimenya ku lunaku olwo, ne batta abantu bonna abaakirimu ku lunaku olwo obutalekaawo n'omu nga bwe baakola Lakisi. Awo Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne bava mu Eguloni ne balumba Kebbulooni ne bakirwanyisa. Ne bakimenya ne batta kabaka waamu n'abantu bonna abaali mu bibuga byakyo byonna, ne batalekaawo muntu yenna nga bwe baakola Eguloni. Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna, ate n'alumba Debiri n'akirwanyisa; n'akimenya, n'atta abantu bonna abaali mu bibuga byakyo obutalekaawo n'omu. Yoswa n'akola Debiri ne kabaka waamu, nga bwe yakola Kebbulooni ne Libuna ne bakabaka baamu. Bw'atyo Yoswa n'awangula ensi zonna ezo, ensi ey'ensozi, ey'obukiikaddyo, ey'ensenyi, ey'ebiwonvu; ne bakabaka baamu bonna, n'atta abantu bonna abaazirimu, obutalekaawo n'omu, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira. Yoswa n'abawangula okuva e Kadesubanea okutuuka ku Gaza; n'azingiramu ensi yonna ey'e Goseni okutuuka e Gibyoni. Ne bakabaka abo bonna n'ensi zaabwe, Yoswa n'abawangula omulundi gumu, kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri. Awo Yoswa n'eggye lyonna erya Isiraeri ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali. Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yawulira obuwanguzi bwa Isiraeri, n'atumira Yobabu kabaka w'e Madoni, ne kabaka w'e Simuloni, ne kabaka w'e Akusafu, ne bakabaka abaali ku luuyi olw'obukiikakkono, mu nsi ey'ensozi, ne mu Alaba ku luuyi olw'obukiikaddyo olw'e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez'e Doli ku luuyi olw'ebugwanjuba. Era n'atumira n'Abakanani ab'ebuvanjuba n'ebugwanjuba, n'Abamoli, n'Abakiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi ab'omu nsi ey'ensozi, n'Abakiivi mu nsi ey'e Mizupa, olusozi Kerumooni gye lusimba. Awo ne bajja, buli omu n'eggye lye, ne baba bangi ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo. Awo bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basiisira wamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Tobatya abo, kubanga enkya nga kaakano nnaaba mmaze okubawaayo eri Isiraeri nga bafu. Embalaasi zaabwe onoozitema enteega, n'amagaali gaabwe onoogokya omuliro.” Awo Yoswa n'ajja, n'abalwanyi be bonna n'abazinduukiriza ku mazzi g'e Meromu nga tebamanyi. Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babawondera okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu eky'e Mizupe mu buvanjuba. Ne babatta obutalekaawo n'omu nga mulamu. Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagira; n'atema embalaasi zaabwe enteega, n'amagaali gaabwe n'agokya omuliro. Mu biro ebyo, Yoswa n'adda emabega n'akuba Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala. Edda Kazoli kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna. Ne batta abantu bonna abaalimu ne batalekaawo n'omu nga mulamu, n'ekibuga ne bakyokya omuliro. Yoswa n'awamba ebibuga ne bakabaka baamu bonna, n'atta buli muntu obutalekaawo n'omu, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira. Naye ebibuga ebyazimbimbwa ku bifunvu, Abaisiraeri tebaayokyako n'ekimu, okuggyako Kazoli kyokka, Yoswa kye yayokya. Abaana ba Isiraeri ne beetwalira omunyago gw'ebibuga ebyo awamu n'ente, naye ne batta buli muntu yenna obutalekaawo n'omu. Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, bw'atyo ne Musa bwe yalagira Yoswa; ne Yoswa bw'atyo bwe yakola n'ataleka kintu kyonna obutakikola mu byonna Mukama bye yalagira Musa. Bw'atyo Yoswa bwe yawamba ensi eyo yonna, ensi ey'ensozi, n'ey'obukiikakkono n'ey'obukiikaddyo, n'ekitundu kyonna ekya Goseni, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ekiwonvu kyayo; n'okuva ku lusozi Kalaki, okwambuka e Seyiri, n'okutuuka e Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni. Bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita n'abatta. Yoswa yalwawo ng'alwana ne bakabaka abo bonna. Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni. Ebibuga ebirala byonna babiwambira mu kulwana. Kubanga Mukama yabakakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, awatali kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa. Mu biro ebyo Yoswa n'agenda n'azikiririza ddala Abanaki mu nsi ey'ensozi, mu Kebbulooni, mu Debiri, mu Anabi, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Isiraeri; Yoswa n'abazikiririza ddala, wamu n'ebibuga byabwe. Tewaali b'Anaki abaasigalawo mu nsi ey'abaana ba Isiraeri; wabula mu Gaza, mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigala abamu. Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna, nga Mukama bwe yagamba Musa. Yoswa n'awa Abaisiraeri ensi eyo okuba obusika bwabwe, nga buli kika akiwa ekitundu ekyakyo. Awo ensi n'ewummula okulwana. Bano be bakabaka ab'ensi, abaana ba Isiraeri be bawangula ne batwala ensi yaabwe eri emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw'ebuvanjuba; Sikoni kabaka w'Abamoli, eyabeeranga e Kesuboni ng'afuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'ekitundu kya Gireyaadi, okutuukira ddala ku mugga Yabboki, oguli ku nsalo ey'abaana ba Amoni; era yafuga ne Alaba okutuukira ddala ku nnyanja ey'e Kinnerosi, ku luuyi olw'ebuvanjuba, naatuukira ddala ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo ku luuyi olw'ebuvanjuba, ku kkubo eridda e Besuyesimosi; ne ku luuyi olw'obukiikaddyo, wansi w'olusozi Pisuga. N'awangula ne Ogi kabaka w'e Basani, omu ku Balefa abaali basigaddewo, eyafugiranga mu Asutaloosi ne mu Ederei, era eyafugiranga ne ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuukira ddala ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi, n'ekitundu kya Gireyaadi okutuukira ddala ku nsalo ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni. Musa omuweereza wa Mukama n'Abaisiraeri baawangula bakabaka abo, ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu ekimu eky'okubiri eky'Ekika kya Manase ebe yaabwe. Era bano be bakabaka ab'ensi Yoswa n'abaana ba Isiraeri be bawangula ebugwanjuba bwa Yoludaani okuva e Baalugadi ekiri mu kiwonvu kya Lebanooni okutuukira ddala ku lusozi Kalaki, n'okwambuka okutuuka e Seyiri; Yoswa n'agiwa abaana ba Isiraeri ebe eyabwe, buli kika nga akiwa ekitundu ekyabwe; ekitundu ekyo kyatwalirangamu ensi ey'ensozi, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, okutuukira ddala mu ddungu obukiikaddyo; mwe mwabeeranga Abakiiti, Abamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n'Abayebusi. Abaana ba Isiraeri bawangula ne bakabaka bano: ow'e Yeriko, ow'e Ayi, ekiriraanye Beseri, omu; Ow'e Yerusaalemi, omu; ow'e Kebbulooni; Ow'e Yalamusi, ow'e Lakisi; Ow'e Eguloni, ow'e Gezeri, Ow'e Debiri, ow'e Gederi, Ow'e Koluma, ow'e Yaladi, Ow'e Libuna, ow'e Adulamu; Ow'e Makkeda, ow'e Beseri; Ow'e Tappua, ow'e Keferi; Ow'e Afeki, ow'e Lasaloni; Ow'e Madoni, ow'e Kazoli; Ow'e Simulonimeroni, ow'e Akusafu; Ow'e Taanaki, ow'e Megiddo; Ow'e Kedesi, ow'e Yokuneamu; Ow'e Doli ku lusozi Doli, ow'e Goyiyimu mu Girugaali; n'owe Tiruza, bakabaka bonna baali asatu mu omu (31). Yoswa yali akaddiyidde ddala; Mukama n'amugamba nti, “Okaddiye nnyo, naye wakyasigaddeyo ensi nnyingi ezitanawangulwa. Zino ze nsi ezikyasigaddeyo: ensi yonna ey'Abafirisuuti n'Abagesuli; okuva ku mugga Sikoli, oguli ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo n'Ekuloni mu bukiikakkono, ebalibwa okuba ey'Abakanani era efugibwa abaami abataano (5) ab'Abafirisuuti; Abe Gaza, abe Asudodi, abe Abasukuloni, abe Gitti, n'Abekuloni; era n'Abavi, ku luuyi olw'obukiikaddyo; eyo y'ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala eky'Abasidoni, okutuukira ddala ku Afiki, ku nsalo n'Abamoli; n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi ekiri wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi, Abantu bonna abali mu nsi ey'ensozi okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be ba Sidoni bonna; ndibagoba ng'abaana ba Isiraeri balaba; kyokka ensi yabwe ogigabire abaana ba Isiraeri okuba obutaka, nga bwe nnakulagira. Kale kaakano ensi eno ogigabe okuba obusika eri ebika omwenda, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.” Ekika kya Lewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu eky'okubiri eky'Ekika kya Manase, byali bimaze okufuna ebitundu ebyabyo, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa obuvanjuba bw'Omugga Yoludaani; Ekitundu ekyo kiva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuukira ddala ku Diboni; n'ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo, ey'abaana ba Amoni; ne Gireyaadi, n'ensalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'olusozi lwonna Kerumooni, ne Basani yonna okutuuka ku Saleka; Obwo bwe bwali obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafugira mu Asutaloosi ne mu Ederei eyali omu ku Balefa abaasigalawo. Abo bonna Musa yabawangula, nabasanyaawo. Naye abaana ba Isiraeri tebaagobamu Bagesuli n'Abamaakasi; n'okutuusa kati bakyali mu Isiraeri. Ekika ekya Leevi kyokka Musa kyataawa butaka; bo baweebwa ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eri Mukama Katonda wa Isiraeri, okuba omugabo gwabwe nga Mukama bwe yalagira Musa. Buno bwe butaka Musa bweyawa ekika kya Lewubeeni. Ensalo yaabwe eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba; Kesuboni, n'ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi; Diboni, ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni: ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw'omu kiwonvu; ne Besupyoli, ne Pisuga awakkirwa, ne Besuyesimosi; n'ebibuga byonna eby'olusenyi, n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafugiranga e Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n'abaami ab'e: Midiyaani, Evi, Lekemu, Zuuli, Kuli, ne Leba. Mu abo abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala mwe mwali ne Balamu omulaguzi mutabani wa Byoli. Omugga Yoludaani ye yali ensalo ey'ekika kya Lewubeeni ebugwanjuba. Obwo bwe bwali obutaka bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu. Buno bwe butaka Musa bweyawa ekika kya Gaadi. Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba; era okuva ku Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu; era okuva ku Makanayimu okutuuka ku nsalo ey'e Debiri; ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, ekitundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe butaka obw'ekika kya Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu. Buno bwe butaka Musa bweyagabira ekitundu eky'ekika kya Manase obuvanjuba bw'omugga Yoludaani. Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Makanayimu, n'ekitwaliramu Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w'e Basani, n'ebibuga byonna enkaaga (60) ebya Yayiri, ebyali mu Basani; kyatwaliramu ekitundu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, n'ebibuga byonna eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, ebyali eby'abaana ba Makiri mutabani wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali. Bw'atyo Musa bwe yagabanyaamu ekitundu ekiri ebuvanjuba bwa Yeriko ne Yoludaani, mu nsenyi za Mowaabu. Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa butaka; Mukama, Katonda wa Isiraeri, gwe mugabo gwabwe, nga Mukama weyalagira Musa. Buno bwe butaka; Eriyazaali kabona, Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'abakulu be bika; bwe bagabira abaana ba Isiraeri mu nsi ya Kanani, Obutaka buno bwagabirwa ebika omwenda n'ekitundu nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa. Musa yali amaze okugabira ebika ebibiri n'ekitundu obutaka bwabyo obuvanjuba bwa Yoludaani; naye Abaleevi bo teyabagabira butaka. Bo abaana ba Yusufu bavaamu ebika bibiri, ekya Manase ne Efulayimu; Abaleevi bo tebaweebwa butaka wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe. Abaana ba Isiraeri bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa. Lumu ab'omu kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa e Girugaali. Kalebu omu kubo mutabani wa Yefune Omukenizi, n'agamba Yoswa nti, “ Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa omuddu wa Katonda mu Kadesubanea ekikwata ku nze naawe. Nali mpeza emyaka ana (40). Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; naamuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe byali ku mutima gwange. Naye baganda bange benagenda nabo ne batiisa abantu, wabula nze nnagobererera ddala Mukama Katonda wange kyayagala. Ku lunaku olwo Musa nandayirira nga agamba nti, ‘nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange kyayagala, ekitundu ky'ensi kyolinyemu ekigere kyo kye kiriba obutaka bwo gwe n'abaana bo emirembe gyonna.’ Era kaakano, giweze emyaka ana mu etaano (45), kasookedde Mukama agamba Musa ebigambo ebyo. Mu biseera ebyo Isiraeri yali ekyatambulira mu ddungu. Era Mukama ankumye nga ndi mulamu nga bweyasuubiza, kati mpezeza emyaka kinaana mu etaano (85). Era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako, nkyasobola okulwana oba okukola ekintu ekirala kyonna. Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki bwe baali mu bibuga ebinene ebiriko ebigo, osanga Mukama anaabeera nange, ne mbagobamu, nga Mukama bwe yayogera.” Awo Yoswa n'asabira Kalebu omwana wa Yefune omukisa n'amuwa Kebbulooni okuba obutaka bwe. Okuva olwo Kebbulooni ne kibeera ekya Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi, okutuusa ne kaakano, kubanga Kalebu yagoberera ddala Mukama, Katonda wa Isiraeri. Edda Kebbulooni kyayitibwanga Kiriasualaba, Aluba oyo ye yali asinga obukulu mu ba Anaki. Awo ensi n'ewummula entalo. Obutaka akalulu kebwawa ekika kya Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali bwatuuka ku nkomerero ye ddungu lya Zini, mu bukiikaddyo, ku nsalo ne Edomu. Ensalo ey'obukiika obwo yavira ddala ku bukiikaddyo obw'ennyanja ey'omunnyo; neyeyongerayo ku luuyi olw'obukiikaddyo obw'ekkubo eridda e Akulabbimu, neyeyongerayo okutuuka e Zini, neyambuka mu bukiikaddyo obwa Kadesubanea, n'eyita kumpi ne Kezulooni, n'eyeyongerayo ku Addali, n'ekyamira ku Kaluka, n'eyeyongerayo ku Azumoni, n'egoberera omugga ogw'okunsalo ne Misiri; okutuukira ddala ku nnyanja eya wakati. Eyo y'ensalo ya Yuda ey'omu bukiikaddyo. Ensalo ey'ebuvanjuba yali Nnyanja ya Munnyo, okutuuka Omugga Yoludaani we guyiira mu nnyanja eyo. N'ensalo ey'oludda olw'ebukiikakkono nga eva ku kikono ky'ennyanja okutuuka omugga Yoludaani we guyiira mu nnyanja. Ensalo yatandikira awo, n'eyambuka okutuuka ku Besukogula, n'eyita ku bukiikakkono bwa Besualaba; neyeyongerayo okutuuka ku Jjinja lya Bokani mutabani wa Lewubeeni; n'ensalo n'eyambuka okutuuka e Debiri, ng'eva mu kiwonvu Akoli, n'eraga e Girugaali, mu bukiikakkono, ekitunuulidde ekkubo eryambuka ku Lusozi Adummimu, oluli emitala w'omugga ku ludda olw'ebukiikaddyo. Ne yeyongerayo okutuuka ku mazzi ag'e Ensemesi, n'ekoma ku Enerogeri; Awo ensalo n'eyita mu Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ku ludda olw'ebukiikaddyo obw'olusozi, okwali Yerusaalemi ekibuga eky'Abayebusi. Ensalo n'eyambuka ku ntikko y'olusozi, olutunuulidde ekiwonvu kya Kinomu ku ludda olw'ebugwanjuba, ku nkomerero y'Ekiwonvu kya Lefayimu ey'omu bukiikaddyo obwa kkono; Okuva awo, ensalo n'eraga ku ntikko ey'olusozi okutuuka ku nsulo z'amazzi ga Nefutoa, n'etuuka ku bibuga eby'oku Lusozi Efulooni. Awo ensalo n'ewetamu n'eyolekera Baala oba Kiriyasuyalimu; Ku Baala w'ekyamira ku ludda olw'ebugwanjuba n'edda ku Lusozi Seyiri, n'egenda okutuuka ku Lusozi Yealimuoba Kyesaloni ku ludda olw'ebukiikakkono, n'ekka ku Besusemesi, n'eyita ku mabbali ga Timuna; ensalo n'eyita ku mabbali g'ebukiikakkono obw'Olusozi Ekuloni, n'ewetamu n'eyolekera Sikkeroni, n'eyita Lusozi Baala, n'etuuka ku Yabuneeri; n'ekoma ku Nnyanja Eyawakati. Ennyanja eyo n'eba ensalo ey'ebugwanjuba. Ezo ze nsalo ezeetoolodde enjuyi zonna ez'ekitundu ekyaweebwa ekika kya Yuda nga enda zabwe bwe zaali. Yoswa n'awa Kalebu mutabani wa Yefune omugabo mu b'Ekika kya Yuda, nga Mukama bwe yamulagira. N'amuwa Kiriasualaba ye Kebbulooni, Aluba oyo yali kitaawe wa Anaki. Kalebu n'agobamu abaana abasatu aba Anaki, Sesayi, Akimaani ne Talumaayi. N'ava eyo, n'alumba Debiri, edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi. Kalebu n'ayogera nti anaawamba Kiriasuseferi n'amuwa Akusa muwala wange okumuwasa. Osunieri mutabani wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n'akiwamba, n'amuwa muwala we okumuwasa. Akusa bwe yajja eri Osunieri n'amukuutira asabe kitaawe amuwe ennimiro, awo Akusa n'ava ku ndogoyi ye. Kalebu n'amubuuza nti, “Oyagala ki?” Akusa n'addamu nti, “Njagala ompe ekirabo, nga bw'ompadde ensi enkalu, era mpa n'enzizi z'amazzi.” Kalebu n'amuwa enzizi e'zengulu n'ez'emmanga. Buno bwe butaka obw'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali. Ebibuga eby'ekika eky'abaana ba Yuda, ku luuyi olw'ebukiikaddyo okwolekera ensalo ya Edomu, byali Kabuzeeri, Ederi, ne Yaguli; Kina, Dimona, ne Adada; Kedesi, Kazoli, ne Isunani; Zifu, Teremu, ne Bealosi; Kazolukadatta, ne Keriosukezulooni ye Kazoli; Amamu, Sema, ne Molada Kazalugadda, Kesumoni, ne Besupereti; Kazalusuali, Beeruseba, ne Biziosia; Baala, Yimu, ne Ezemu; Erutoladi, Kyesiri, ne Koluma; Zikulagi, Madumanna, ne Samusanna; Lebaosi, Sirukimu, Ayini, ne Limmoni: ebibuga byonna biri abiri mu mwenda (29), n'ebyalo byabyo. Ebibuga eby'omu nsenyi byali: Esutaoli, Zola, ne Asuna; Zanowa, Engannimu, Tappua ne Enamu; Yalamusi, Adulamu, Soko, ne Azeka; Saalayimu, Adisaimu, Gedera, ne Gederosaimu; ebibuga byonna byali kkumi na bina (14), n'ebyalo byabyo. Waliwo n'ebibuga bino: Zenani, Kadasa, ne Migudalugadi; Dirani, Mizupe, ne Yokuseeri; Lakisi, Bozukasi, ne Eguloni; Kabboni, Lamamu, ne Kitulisi; Gederosi, Besudagoni, Naama, ne Makkeda. Na bino byali ebibuga kkumi na mukaaga (16), n'ebyalo byabyo. Waliwo ne bibuga bino: Libuna, Eseri, ne Asani; Ifuta, Asuna, ne Nezibu; Keira, Akuzibu, ne Malesa. Na bino byali ebibuga mwenda (9), n'ebyalo byabyo. Waliwo Ekuloni n'ebibuga n'ebyalo byakyo: okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja eyawakati, waliwo ebibuga n'ebyalo byabyo okuliraana Asudodi. Waliwo Asudodi, ebibuga n'ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga n'ebyalo byakyo nga bituukira ddala ku mugga ogw'e Misiri ne ku lubalaza lw'ennyanja eyawakati. Ebibuga eby'omu nsozi byali: Samiri, Yattiri, ne Soko; Danna, ne Kiriasusanna ye Debiri; Anabu, Esutemo, ne Animu; Goseni, Koloni, ne Giro. Na bino byali ebibuga kkumi na kimu (11), n'ebyalo byabyo. Waliwo ne bibuga bino: Alabu, Duma, ne Esani; Yanimu, Besutappua, ne Afeka; Kumuta, Kiriasualuba ye Kebbulooni, ne Zioli. Na bino byali ebibuga mwenda (9), n'ebyalo byabyo. Waliwo ne bibuga bino: Mawoni, Kalumeeri, Zifu, ne Yuta; Yezuleeri, Yokudeamu, ne Zanoa; Kaini, Gibea, ne Timuna. Na bino byali ebibuga kkumi (10), n'ebyalo byabyo. Waliwo n'ebibuga bino: Kalukuli, Besuzuli, ne Gedoli; Maalasi, Besuanosi, ne Erutekoni. Na bino byali ebibuga mukaaga (6), n'ebyalo byabyo. Waliwo Kiriasubaali ye Kiriyasuyalimu, ne Labba; bye bibuga bibiri (2), n'ebyalo byabyo. N'ebibuga eby'omuddungu byali: Besualaba, Middini, ne Sekaka; Nibusani, ekibuga eky'Omunnyo, ne Engedi. Na bino byali ebibuga mukaaga (6) n'ebyalo byabyo. Naye bazzukulu ba Yuda ne batasobola kugoba Bayebusi mu Yerusaalemi n'okutuusa kati. Akalulu bwe kakubwa abaana ba Yusufu ne baweebwa obutaka bwabwe, nga buva ku mugga Yoludaani kumpi ne Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eriva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka e Beseri; n'okuva e Beseri okutuuka e Eruzi, ne bayita ku nsalo ey'Abaluki mu Atalosi; ensalo n'ekka ku luuyi olw'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'Abayafuleti, neyeyongerayo okutuukira ddala e Besukolooni eky'emmanga, okuva awo neyeyongerayo okutuuka e Gezeri n'ekoma ku nnyanja eyawakati. Bazzukulu ba Yusufu abasibuka mu Efulayimu ne Manase, ne bafuna ekitundu ekyo kibeerenga obutaka bwabwe. N'ekitundu ky'abaana ba Efulayimu kye bafuna ng'enda zaabwe bwe zaali, kyali bw'ekiti: ensalo ey'obutaka bwabwe ku luuyi olw'ebuvanjuba yali Atalosuaddali, okutuuka ku Besukolooni eky'engulu; neyeyongerayo n'ekoma ku luuyi olw'ebugwanjuba ku Mikumesasi mu bukiikakkono; neva awo neyetooloola ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka e Taanasusuro, n'ekiyitako netuuka e Yanoa ku luuyi olw'ebuvanjuba. N'eva e Yanoa n'ekka neyita e Atalosi, ne Naala, neyongerayo n'etuuka e Yeriko, n'ekoma ku Yoludaani. Okuva e Tappua ensalo neyeyongera ebugwanjuba netuuka ku mugga Kana, neyeyongerayo n'ekoma ku nnyanja eyawakati. Buno bwe butaka bw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali; wamu n'ebibuga ne byalo byabyo, ebyaweebwa abaana ba Efulayimu nga biri mu butaka bw'abaana ba Manase. Naye tebagobamu Bakanani abaali mu Gezeri: wabula Abakanani ne babeera wamu nab'Efulayimu, okutuusa kati, ne bafuuka abaddu okukolanga emirimu egibalagirwa. Awo akalulu ne kakubwa, ak'ekika kya Manase, kubanga oyo ye omwana wa Yusufu omubereberye. Makiri, omubereberye wa Manase, era jjajja wa Gireyaadi, kubanga yali mulwanyi, n'aweebwa Gireyaadi ne Basani. Era obululu n'ebukubibwa eri abaasigalawo mu kika Manase, ng'ennyumba zaabwe bwe zaali; Abiezeri ne Kereki, ne Asuliyeri, ne Sekemu, ne Keferi, ne Semida. Abo be bazzukulu ab'obulenzi aba Manase mutabani wa Yusufu, abakulu b'ennyumba. Naye Zerofekadi, omwana wa Keferi, omwana wa Gireyaadi, omwana wa Makiri, omwana wa Manase, teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala; na gano ge mannya ag'abaana be ab'obuwala, Maala, Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza. Ne bagenda eri Eriyazaali kabona, ne Yoswa omwana wa Nuuni, n'abakulu abalala, ne babagamba nti, “Mukama yalagira Musa okutuwa obutaka mu baganda baffe.” Bw'atyo okusinziira ku kiragiro kya Mukama, n'abawa obutaka mu baganda bakitaabwe. Bw'atyo Manase n'afuna ebitundu kkumi ebyeyongera ku Gireyaadi ne Basani ebiri ku ludda lwa Yoludaani olw'ebuvanjuba; kubanga abaana ba Manase abawala nabo baaweebwa obutaka awamu n'abaana be ab'obulenzi. Ensi ey'e Gireyaadi n'eweebwa aba Manase abalala. Obutaka bwa Manase bwava ku Aseri okutuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu. Okuva awo ensalo neyeyongerayo mu bukiikaddyo n'etwaliramu n'abantu be Entappua. Ekibuga Tappua ekyali ku nsalo ya Manase ne Efulayimu kyali kya Efulayimu, naye nga ebitundu ebikyetoolodde byali bya Manase. Awo ensalo neyeyongerayo ng'ekka okutuuka ku mugga Kana. Ebibuga eby'omubukiikakkono obw'omugga, byali bya Efulayimu n'ewankubadde nga byali mu kitundu kya Manase. Ensalo ya Manase neyita ku ludda olwa kkono olw'omugga, n'ekoma ku nnyanja eyawakati; Efulayimu n'abeera ku ludda olw'obukiikaddyo, Manase n'abeera ku bukiikakkono, nga ebitundu byabwe bituuka ku nnyanja eyawakati ku luuyi olw'ebugwanjuba; ekitundu kyabwe ne kituuka ku Aseri ku bukiikakkono, ne Isakaali ku luuyi olw'ebuvanjuba. Mu kitundu kya Isakaali ne Aseri, Manase naafunayo; Besuseani n'ebyalo by'akyo, Ibuleamu n'ebyalo by'akyo, n'abatuuze be Endoli n'e byalo by'akyo, awamu n'abatuuze be Taanaki n'e byalo by'akyo, n'abatuuze be Megiddo n'e byalo by'akyo, ze nsozi essatu. Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani mu bibuga ebyo, naye ne baatula wamu nabo. Abaisiraeri ne bwe beeyongera amaanyi, ne batagobaamu Bakanani bonna, wabula ne babawalirizanga okubakolera emirimu. Bazzukulu ba Yusufu ne bagamba Yoswa nti, “Lwaki otuwadde omugabo gumu gwokka ogw'ettaka okuba ogwaffe, ate nga Mukama yatuwa omukisa ne tuba bangi nnyo?” Yoswa n'addamu nti, “oba nga muli bangi nnyo, ng'ensi ya Efulayimu ey'ensozi tebamala, mugende mu bibira mwesaayire omwo, mu nsi y'Abaperezi n'Abalefa.” Abaana ba Yusufu ne baddamu nti, Ensi ey'ensozi tetumala ate n'Abakanani bonna abali mu kitundu eky'ekiwonvu Besuseani n'ebibuga byakyo ne Yezuleeri, balina amagaali ag'ebyuma. Yoswa n'agamba ennyumba ya Yusufu, ye Efulayimu ne Manase, ng'ayogera nti, “Oli ggwanga ddene, era olina n'amaanyi mangi, toliba na kalulu kamu kokka; naye ensi ey'ensozi eribeera yiyo; kuba newakubadde nga kibira, olikisaawa, n'amakubo agavaamu galiba gago; kubanga Abakanani olibagobamu, newakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma, era newakubadde nga ba maanyi.” Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe bamala okuwangula ensi ne bakuŋŋaanira e Siiro, ne basimba eyo eweema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu. Ensi yonna n'eba mu mikono gyabwe. Waali wakyasigaddeyo ebika musanvu mu baana ba Isiraeri, ebyali bitanafuna butaka bwabyo. Yoswa n'abuuza abaana ba Isiraeri nti, “Mulituusa wa okugayaala ne mutagenda kugabana nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa? Kale no mwerondemu abasajja basatu, okuva mu buli kika, mbatume bagende beetegereze ensi, bawandiike bweyinza okugabanyizibwamu, balyoke bakomewo gye ndi. Ensi baligigabanyamu ebitundu musanvu. Yuda nga asigala ku nsalo ye ku luuyi olw'obukiikaddyo, n'ennyumba ya Yusufu nga esigala ku nsalo yayo ku luuyi olw'obukiikakkono. Muwandiike ebinnyonnyola ku bitundu ebyo omusanvu, mundeetere bye muwandiise, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama, Katonda waffe. Naye Abaleevi tebajja kufuna mugabo gwa ttaka mu mmwe, kubanga omugabo ogwabwe, kwe kuweereza Mukama mu bwakabona. Ate Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'Ekika kya Manase, Musa omuweereza wa Mukama yamala dda okubawa obutaka bwabwe ebuvanjuba bwa Yoludaani.” Abantu ne basituka ne bagenda; Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti, “Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro.” Abasajja ne bagenda ne bayitaayita mu nsi eyo, ne bawandiika mu kitabo nga bwe bagigabanyizzaamu ebitundu omusanvu, nga balaga n'ebibuga byabyo. Awo ne baddayo eri Yoswa mu lusiisira e Siiro. Yoswa n'abakubira obululu mu maaso ga Mukama e Siiro. Buli kika eky'abaana ba Isiraeri ekyali kitanagabana n'akiwa obutaka bwakyo. Akalulu bwe kakubibwa ekika kya Benyamini kye kyasooka okulondebwamu, n'ekiweebwa obutaka mu makati w'ekika kya Yuda ne Yusufu. Ensalo yaabwe mu bukiikakkono nga eva ku Yoludaani neyambuka okutuuka ku bukiikakkono bw'ekikono kya Yeriko, neyeyongerayo mu nsi ey'ensozi ku luuyi olw'ebugwanjuba n'ekoma ku ddungu Besaveni. Okuva eyo n'eyita ku bukiikaddyo okwolekera Luzi, ku kikono kya Luzi, ye Beseri, n'ekka okutuuka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku bukiikaddyo bwa Besukolooni eky'emmanga. Ensalo n'ekyukira ku ludda olulala, neva ku bukiikaddyo nedda ku bugwanjuba bw'olusozi Besukolooni, neyeyongerayo ku Kiriasubaali ye Kiriyasuyalimu, ekibuga eky'abaana ba Yuda ku luuyi olw'ebugwanjuba. Mu bukiikaddyo obwa ddyo, ensalo netandikira Kiriyasuyalimu we kikoma, neyeyongerayo ebugwanjuba okutuuka ku luzzi olw'e Nefutoa; ensalo n'ekka olusozi gyerukoma oluliraanye ekiwonvu eky'omwana wa Kinomu, mu bukiikakkono obw'ekiwonvu kya Leefa, n'ekka mu bukiikaddyo nga eyita mu kiwonvu Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bwa Yebusi n'ekka okutuuka ku Enerogeri; neyeyongerayo e bukiikakkono, n'ekoma ku Ensemesi, neyeyongerayo okutuuka e Gerirosi, ekiri emitala w'ekkubo erigenda Adummimu; neyeyongerayo n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni; n'eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw'obukiikakkono, n'ekka mu Alaba; ensalo n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'e Besukogula ku luuyi olw'obukiikakkono; n'ekoma Yoludaani weguyira ku bukiikakkono bw'ennyanja ey'omunnyo; eyo ye nsalo ey'obukiikaddyo. Ate omugga Yoludaani gwe gwali ensalo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obutaka bw'ekika kya Benyamini nga enda zaabwe bwe zaali. Era bino bye byali ebibuga by'ekika kya Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: Yeriko, Besukogula ne Emekkezizi; Besualaba, Zemalaimu, ne Beseri; Avvimu, Pala, ne Ofula Kefalamoni, Ofuni, ne Geba; bye bibuga kkumi na bibiri (12) n'ebyalo byabyo. Waliwo ne bibuga bino: Gibyoni, Laama, ne Beerosi; Mizupe, Kefira, ne Moza; Lekemu, Irupeeri, ne Talala; Zeera, Erefu, Yebusi ye Yerusaalemi, Gibeasi ne Kiriasi; bye bibuga kkumi na bina (14) n'ebyalo byabyo. Obwo bwe butaka bwe kika kya Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali. Akalulu ak'okubiri bwekaakubibwa ekika kya Simyoni ne kirondebwa, ne kiweebwa ekitundu kyakyo ekyali wakati wekyo ab'ekika kya Yuda kye bafuna. Ekitundu kyabwe kyalimu ebibuga bino: Beeruseba oba Seba, ne Molada; Kazalusuali, Bala, ne Ezemu; Erutoladi, Besuli, ne Koluma; Zikulagi, Besumalukabosi ne Kazalususa; Besulebaosi ne Salukeni; ebibuga byonna byali ebibuga kkumi na bisatu, n'ebyalo byabyo; Waliwo ne bibuga bino: Ayini, Limmoni, Eseri ne Asani; bye bibuga bina, n'ebyalo byabyo, Ebibuga ebyo n'ebyalo ebibyetoolodde okutuukira ddala ku Baalasubeeri ye Laama, obukiikaddyo; bwe butaka obwaweebwa ekika kya Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali. Obutaka obw'ekika kya Simyoni; bwali wamu n'obw'ekika kya Yuda, olw'okuba omugabo ogw'abaana ba Yuda gw'abayitirirako obunene, ab'ekika kya Simyoni kyebaava bafuna obutaka wakati mu butaka bw'ekika kya Yuda. Akalulu ak'okusatu bwekaakubibwa, ekika kya Zebbulooni ne kirondebwa. Ekitundu kye bafuna kyatuuka ku Salidi; Okuva awo ensalo yaabwe yalaga bugwanjuba okutuuka e Malala neyeyongerayo e Dabbesesi okutuukira ddala ku mugga Yokuneamu; okuva e Salidi n'egenda ku ludda olw'ebuvanjuba okutuukira ddala ku nsalo ya Kisulosutaboli, neyeyongerayo ku Daberasi netuuka e Yafiya; okuva awo n'eyita ku ludda olw'ebuvanjuba n'etuuka e Gasukeferi neyeyongerayo e Esukazini n'ekoma ku Limmoni ekituuka ku Nea; Ku luuyi olw'obukiikakkono ensalo yeetooloola netuuka ku Kannasoni neyeyongerayo n'ekoma ku kiwonvu Ifutakeri; Ensalo yabwe yatwaliramu ebibuga kkumi na bibiri (12), n'ebyalo byamu, ebimu ku bibuga ebyo bye bino: Kattasi, Nakalali, Simuloni, Idala ne Besirekemu. Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Zebbulooni, ebibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali. Akalulu ak'okuna bwekaakubibwa, ekika kya Isakaali n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo. Ekitundu kye bafuna kyalimu: Yezuleeri, Kesulosi ne Sunemu; Kafalaimu, Sioni ne Anakalasi; Labbisi, Kisioni ne Ebezi; Lemesi, Engannimu, Enkadda ne Besupazzezi; ensalo n'etuuka ku Taboli, Sakazuma ne Besusemesi; n'ekoma ku mugga Yoludaani; bye bibuga kkumi na mukaaga (16), n'ebyalo byabyo. Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali. Akalulu ak'okutaano bwekaakubibwa, ekika kya Aseri n'ekirondebwa n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali. Ekitundu kye bafuna kyalimu: Kerukasi, Kali, Beteni ne Akusafu; Alammereki, Amadi ne Misali; n'okutuuka ku Kalumeeri ne Sikolulibunasi ku luuyi olw'ebugwanjuba; Ensalo yabwe ne yeyongerayo ku luuyi olw'ebuvanjuba n'etuuka ku Besudagoni, ne ku Zebbulooni, ne ku kiwonvu Ifutakeri ku bukiikakkono, neyeyongerayo okutuuka e Besuemeki ne Neyeri. Okuva awo yeyongerayo e Kabuli mu bukiikakkono; neyeyongerayo e Ebuloni, Lekobu, Kammoni, Kana, okutuukira ddala e Sidoni; ensalo neweta okudda Laama netuuka ku kibuga Ttuulo ekiriko ekigo; neweta nedda e Kosa okutuuka ku nnyanja eyawakati. Waliwo ne bibuga bino: Uma, Afiki ne Lekobu; ebibuga byonna byali abiri mu bibiri (22), n'ebyalo byabyo. Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo. Akalulu ak'omukaaga bwekaakubibwa ekika kya Nafutaali n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali. Ensalo yaabwe yava e Kerefu netuuka ku mwera gwe Zaanannimu neyeyongerayo okutuuka Adaminekebu, ne Yabuneeri ne Lakkumu n'ekoma ku Yoludaani, ensalo neweta nedda ku luuyi olw'ebugwanjuba okutuuka Azunosutaboli neyeyongerayo netuuka ku Kukkoki ne Zebbulooni ku luuyi olw'obukiikaddyo; neva awo yeyongerayo okutuuka ku Aseri ku luuyi olw'ebugwanjuba, neyita ku Yuda n'ekoma ku Yoludaani ebuvanjuba. N'ebibuga bye bafuna ebiriko ebigo byali: Ziddimu, Zeri, Kammasi, Lakkasi ne Kinneresi; Adama, Laama, ne Kazoli; Kesedi, Ederei, ne Enkazoli; Ironi, Migudaleri, Kolemu, Besuanasi ne Besusemesi; ebibuga byonna byali kkumi na mwenda, n'ebyalo byabyo. Obwo bwe butaka bwe kika kya Nafutaali ne bibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali. Akalulu ak'omusanvu bwekaakubibwa ekika kya Ddaani n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali. Ekitundu kye bafuna kyalimu: Zola, Esutaoli, ne Irusemesi; Saalabbini, Ayalooni ne Isula; Eroni, Timuna ne Ekuloni; Eruteke, Gibbesoni ne Baalasi; Yekudi, Beneberaki ne Gasulimmoni; Meyalakoni, ne Lakoni n'okutukira ddala ku nsalo ne Yafo. Awo ab'omu kika kya ddaani bwe baafiirwa ekitundu kyabwe, ne bagenda e Lesemu, ne bakirumba ne bakirwanyisa, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu bonna, ne bakituuma erinnya Ddaani, erya jjajjaabwe. Obwo bwe butaka obw'ekika kya Ddaani, ebibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali. Abaana ba Isiraeri bwe bamala okugabanyamu ensi ebitundu, buli kika ne kifuna ekitundu kyakyo, awo ne balyoka bawa Yoswa mutabani wa Nuuni ekitundu ekikye; nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga Timunasusera kyeyasaba ekiri mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu; naakizimba n'abeera omwo. Obwo bwe butaka Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n'abakulu b'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagaba nga bakuba obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabanya ensi. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Mwerondere ebibuga eby'okuddukirangamu bye nnabagambako nga mpita mu Musa. Oyo anaabanga asse omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga eyo okuwona oyo amunoonya okuwoolera eggwanga. Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, n'ategeeza abakadde be kibuga ekyo ensonga ze; nabo banaamutwalanga mu kibuga gyebali, ne bamuwa ekifo eky'okubeeramu, era anaasigalanga n'abo. Oyo anoonya okuwoolera eggwanga bw'anamulumbangayo, ab'omukibuga ekyo, tebaamuwengayo mu mikono gye, banaakuumanga eyatta, kubanga omuntu yamutta nga tagenderedde, naye nga si lwa kumukyawa. Oyo eyatta omuntu anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa nga amaze okuwozesebwa n'okusalirwa omusango mu maaso g'ekibiina ky'abantu, okutuusa nga kabona asinga obukulu aliwo mu biseera ebyo amaze okufa; Olwo omussi oyo n'alyoka addayo mu kibuga kye, ne mu nnyumba ye, gye yava okudduka.’ ” Bino by'ebibuga bye balonda okuddukirangamu: Kedesi eky'omu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba ye Kebbulooni mu nsi ey'ensozi eya Yuda. Ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omugga Yoludaani ne balonda: Bezeri ekya b'ekika kya Lewubeeni ekiri mu lusenyi olw'eddungu mu buvanjuba bwa Yeriko, Lamosi ekya b'ekika kya Gaadi mu Gireyaadi ne Golani ekya b'ekika kya Manase mu Basani. Ebyo bye bibuga ebyalondebwa abaana ba Isiraeri okuba eby'okuddukirangamu. Omuntu yenna oba mu Isiraeri oba munnaggwanga anattanga omuntu nga tagenderedde addukirenga omwo, aleme okuttibwa oyo awooleera eggwanga, okutuusa nga amaze okuwozesebwa mu maaso g'ekibiina. Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuuni n'eri abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri; ne babagambira mu Siiro mu nsi ya Kanani nti, “Mukama yalagira ng'ayita mu Musa okutuwa ebibuga eby'okubeeramu, n'ebyalo ebiriraanye, (ettale ery'okulundiramu) ente zaffe.” Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi mu busika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira, ebibuga bino n'ettale lyabyo. N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi, n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu (13). N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi (10). N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani, ebibuga kkumi na bisatu (13). Abaana ba Merali ne baweebwa ng'enda zaabwe bwe zaali mu kika kya Lewubeeni, ne mu kika kya Gaadi, ne mu kika kya Zebbulooni, ebibuga kkumi na bibiri (12). N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa. Ne babawa mu kika eky'abaana ba Yuda, ne mu kika eky'abaana ba Simyoni, ebibuga bino ebigenda okumenyebwa, ne biba by'abaana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi; kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka. Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde. Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okuba obusika bwe. Ne bawa abaana ba Alooni kabona, Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ne Yattiri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Esutemoa n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ne Koloni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Debiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ne Aini n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Yuta n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, (ne) Besusemesi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga mwenda (9) mu bika ebyo ebibiri. Ne mu kika kya Benyamini, Gibyoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Geba n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; Anasosi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Alumoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). Ebibuga byonna eby'abaana ba Alooni, bakabona, byali ebibuga kkumi na bisatu (13) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye. N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu. Ne babawa Sekemu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Gezeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ne Kibuzaimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Besukolooni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). Ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Gibbesoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; Ayalooni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). Ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, Taanaki, n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bibiri (2). Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi (10) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye. (Ne bawa) abaana ba Gerusoni, ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bibiri (2). Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Daberasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; Yalamusi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Engannimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). Ne mu kika kya Aseri, Misali n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Abudoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; Kerukasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ne Lekobu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bisatu (3). Ebibuga byonna eby'Abagerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali byali ebibuga kkumi na bisatu (13) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye. (Ne bawa) enda ez'abaana ba Merali, (be) Baleevi abalala, mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Kaluta n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Dimuna n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Nakalali n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Yakazi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Kedemosi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Mefaasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; Kesuboni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Yazeri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; byonna ebibuga bina (4). Ebyo byonna byali bibuga by'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri (12). Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga ana mu munaana (48) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye. Ebibuga ebyo byonna byalina ebyalo byabyo ebibyetoolodde; era bwe byali bwe bityo ebibuga ebyo byonna. Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu. Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe; so tewali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe. Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka. Awo Yoswa n'ayita Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, n'abagamba nti, “Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyange mu byonna bye nnabalagira; temulese baganda bammwe ennaku ezo ennyingi okutuuka leero, naye mukutte ekiragiro eky'etteeka lya Mukama Katonda wammwe. Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba; kale kaakano mukyuke muyingire mu weema zammwe (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani. Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna.” Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasindika; ne bayingira mu weema zaabwe. Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani; naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba. Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa, n'abagamba nti, “Muddeyo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n'ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe.” N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira okuyita mu Musa. Bwe baatuuka ku lubalama lwa Yoludaani ebugwanjuba mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ekinene ennyo ekyewuunyisa. Awo abaana ba Isiraeri abalala, bwe bawulira abantu nga boogera nti, “Laba abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi n'ekitundu kye kika kya Manase, bazimbye ekyoto ku nsalo ye nsi ya Kanani, mu kitundu ky'omugga Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri.” Abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira bonna ne bakuŋŋaanira e Siiro babalwanyise. Abaana ba Isiraeri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ye Gireyaadi; era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu bika bya Isiraeri. Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba, “Lwaki mwonoonye bwe mutyo mu maaso ga Mukama Katonda wa Isiraeri? Mukama mumujemedde nga mwezimbira ekyoto kino! mumuvuddeko, temukyamugoberera! Era twongere ku kibi kye twakolera e Peoli, kye tutannaba na kwenaazaako n'okutuusa kaakano, newakubadde nga Mukama yasindika kawumpuli mu bantu be? Mwagala kumuvaako leero? Singa mumujeemera olwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Isiraeri kyonna. Naye kaakano oba ng'ensi yammwe tegwanira kusinzizaamu, mujje mu nsi ya Mukama omuli eweema ye, mwefunire ettaka mu ffe, naye temujeemera Mukama, oba okutufuula abajeemu nga muzimba ekyoto ekirala, ng'ate ekyoto kya Mukama Katonda waffe weekiri. Akani mutabani wa Zeera, bwe yagaana okuwulira ekiragiro ekifa ku bintu ebyali eby'okuzikiriza, ekibiina kyonna ekya Isiraeri tekyabonerezebwa? Akani si ye yekka eyafa olw'ekibi kye.” Abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase ne baddamu abakulu be nnyumba zaba Isiraeri abalala nti, Mukama, Katonda ow'obuyinza, Mukama, Katonda ow'obuyinza; ye amanyi, era nammwe twagala mumanye kye twakola, ddala oba nga twakikola lwa bujeemu, na lwa kw'eggya ku Mukama, ku luno temutusaasira, oba nga twazimba ekyoto lwa kujeemera Mukama, tuleme okumugoberera, oba okukiweerako ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky'obutta, oba okukiweerako ssaddaaka ezebiweebwayo olw'emirembe, Mukama yennyini atubonereze. Naye twakikola kubanga twatya nti gye bujja abaana bammwe bayinza okubuuza abaana baffe nti, “Mulina nkolagana ki ne Mukama Katonda wa Isiraeri?” Kubanga Mukama yafuula Yoludaani okuba ensalo wakati waffe nammwe abaana ba Lewubeeni n'aba Gaadi, n'olwekyo temulina mugabo eri Mukama. Bwe batyo abaana bammwe bandiziyiza abaana baffe okusinza Mukama. Kyetwava tuzimbe ekyoto, si lwa kuweerako ebyokye oba ssaddaaka, naye kibeere obujulirwa wakati waffe nammwe, n'ab'omu mirembe egiriddawo nti ddala tusinza Mukama era tuwaayo mu maaso ge ebiweebwayo olw'emirembe, gye bujja abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe nti, “Temulina mugabo eri Mukama.” Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tubaddamu nti, ekyo kye kyoto ekifaanana ekya Mukama, bajjajjaffe kye bazimba, si lwa byokye oba lwa ssaddaaka; naye kibeere obujulirwa wakati waffe nammwe. Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, n'okukyama leero obutagoberera Mukama, okuzimba ekyoto olw'ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby'obutta, oba olwa ssaddaaka, okuggyako ekyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso g'eweema ye. Awo Finekaasi kabona n'abakulembeze b'ennyumba za baana ba Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye bayogera, ne basanyuka nnyo. Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n'agamba nti, “Kaakano tutegedde nga Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temwamujeemera, muwonyezza Abaisiraeri okubonerezebwa Mukama.” Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo nga bava eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne baddayo, eri abaana ba Isiraeri ne babategeeza ebibaddewo. Ebigambo ebyo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne bataddayo kwogera ku byakugenda kulwanyisa ba Lewubeeni n'aba Gaadi n'okuzikiriza ensi mwe babeera. Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne batuuma ekyoto ekyo erinnya Edi; ekitegeeza nti bwe bujjulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda. Awo nga wayise ekiseera kiwanvu era nga Mukama awadde abaana ba Isiraeri okuwummula eri abalabe baabwe bonna abaali babeetooloodde, nga ne Yoswa akaddiye nnyo; Yoswa n'ayita Abaisiraeri bonna, abakulembeze be nda zaabwe, abalamuzi baabwe n'abaami baabwe, n'abagamba nti, “Nze nkaddiye nnyo; mulabye byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna, kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwaniriranga. Laba, mbagabidde amawanga agatannawangulwa nago agawanguddwa okuba obutaka bw'ebika byammwe, okuva ku mugga Yoludaani ebuvanjuba okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba. Ne Mukama Katonda wammwe aligoba amawanga ago nga mulaba, nammwe ne mutwala ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza. Kale mwekuumenga, mukolenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka ga Musa, temubivangako okukyamira ku mukono ogwa ddyo ne wankubadde ogwa kkono; era muleme nga kwetaba na b'amawanga gano abasigadde mu mmwe, oba okukoowoolanga amannya ga bakatonda baabwe, oba okugakozesanga nga mulayira, oba okusinza bakatonda abo, wadde okubafukaamirira; naye munywerere ku Mukama Katonda nga bwe mubadde mukola okutuusa kaakano. Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi nga mulaba; naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa kaakano. Munnammwe omu anaagobanga abalabe lukumi (1,000), kubanga Mukama Katonda wammwe, yabalwanirira, nga bwe yabagamba. Kale mwekuumenga mwekka mwagalenga Mukama Katonda wammwe. Kubanga bwe mulidda emabega, ne mwegatta n'ab'amawanga ago agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwa nabo, mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli, n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.” “Mulabe nze nnaatera okufa. Mwenna mumanyi bulungi mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe, nga Mukama abawadde ebirungi byonna bye yasuubiza, buli kirungi kye yasuubiza akituukirizza. Tewali na kimu kibuzeeko. Naye nga bwatuukiriza buli kirungi kyeyabasuubiza, bwemulijeema bwatyo Mukama bwalibatuusako buli kabi konna ke yabagamba okutuusa lwalibazikiririza ddala okuva mu nsi eno ennungi gye yabawa. Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.” Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakulembeze be nnyumba z'ebika bya baana ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne bajja mu maaso ga Katonda. Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Fulaati, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli; ne basinzanga bakatonda abalala. Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka. Isaaka n'amuwa Yakobo ne Esawu; ne mpa Esawu Seyiri ensi ey'ensozi okuba eyiye; Yakobo n'abaana be ne baserengeta mu Misiri. Oluvannyuma nnentuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye n'akolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe. Nenzigya bajjajjammwe e Misiri, ne baatuka ku nnyanja emyufu. Abamisiri ne babawondera n'amagaali n'abeebagadde embalaasi. Bajjajjammwe ne bankoowoola nze Mukama mbayambe. Nnenteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Nnenteekawo ekkubo mu nnyanja, bajjajjammwe ne bayitawo, Abamisiri bwe baabawondera ne mbazikiririza mu nnyanja, ne mbasanyawo; era mwalaba na maaso gammwe bye nnakola mu Misiri; era mwamala ennaku nnyingi nnyo mu ddungu. Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omugga Yoludaani; ne balwana nammwe, ne mbawa mwe okubawangula ne mutwala ensi yaabwe, ne mbazikiririza ddala mu maaso gammwe. Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n'ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira, naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate, bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwa Balaki. Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko, n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbabawa ne mubawangula. Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, ne bagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo. Ne mbawa ensi gye mutakolerera n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; era ne mulya ne ku bibala by'ensuku ez'emizabbibu ne z'emizayituuni ze mutaasimba.’ Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa; era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga Fulaati, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama. Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli; naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.” Abantu ne baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala; kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati; Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi; era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.” Yoswa n'agamba abantu nti, “Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe. Bwe munaamuvangako ne muweereza bakatonda abalala, anaabakyukiranga mmwe, n'ababonereza, alibazikiriza, newakubadde nga yasooka kubakolera birungi.” Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda; naye tunaaweerezanga Mukama.” Yoswa n'agamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.” “Kale kaakano muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama, Katonda wa Isiraeri.” Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga, n'eddoboozi lye tunaaliwuliranga.” Bw'atyo Yoswa n'alagaana endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera etteeka n'ekiragiro mu Sekemu. Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali mu kifo ekitukuvu ekya Mukama. Yoswa n'agamba abantu bonna nti, “Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gyetuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye; kyerinaavanga libeera mujulirwa gyetuli, muleme okwegaana Katonda wammwe.” Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli muntu agende mu butaka bwe. Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi (110). Ne bamuziika mu ttaka lye, lye yagabana e Timunasusera, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ku ludda olw'ebukiikakkono obw'olusozi Gaasi. Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaasigalawo Yoswa ng'amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri. Amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baleeta nga bava e Misiri, ne bagaziika e Sekemu, mu ttaka Yakobo lye yagula ebitundu bya ffeeza ekikumi (100), ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Ettaka eryo ne liba obusika bw'abaana ba Yusufu. Eriyazaali mutabani wa Alooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finekaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efulayimu. Awo Yoswa bwe yamala okufa, abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama nti, “Kika ki ekinaasooka okulumba Abakanani okubalwanyisa?” Mukama n'addamu nti, “Ekika kya Yuda ky'ekinasooka okulumba; mbawadde okuwangula ensi eyo.” Ab'ekika kya Yuda ne bagamba ab'ekika kya Simyoni nti, “Mujje tugende fenna mu kitundu ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani nga tuli wamu; era naffe bwe tutyo tuligenda nammwe mu kitundu kyammwe ekyabaweebwa.” Awo ab'ekika kya Simyoni ne bagenda nabo. Awo Yuda n'alumba Abakanani n'Abaperizi, Mukama n'abawa okubawangulira mu Bezeki ne babattamu abasajja omutwalo gumu (10,000). Ne basanga Adonibezeki mu Bezeki, ne bamulwanyisa, ne batta Abakanani n'Abaperizi. Naye Adonibezeki n'adduka; ne bamuwondera, ne bamukwata, ne bamusalako engalo ze ensajja n'ebigere bye ebisajja. Adonibezeki n'agamba nti, “Bakabaka ensanvu (70) be nnatemako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja, baakuŋŋaanyanga obukunkumuka bw'emmere wansi w'emmeeza yange. Kaakano Katonda ansansudde ekyo kye nnabakola.” Ne bamutwala e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. Awo ab'ekika kya Yuda ne baalumba Yerusaalemi ne bakiwangula ne batta abantu bamu, ne bakimenyamenya, ne bakyokya omuliro. Bwe baava awo ne balumba Abakanani ab'omu nsi ey'ensozi, ne mu bisenyi, ne mu nsi enkalu ey'omu bukiikaddyo ne babalwanyisa. Bwe baava eyo ne balumba Abakanani abaali mu Kebbulooni edda ekyayitibwanga Kiriasualuba; ne batta Sesayi, Akimaani ne Talumaayi. Ab'ekika kya Yuda bwe baava eyo ne balumba ekibuga Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi. Omu ku basajja ba Yuda ayitibwa Kalebu n'agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n'akiwangula ndimuwa muwala wange Akusa n'amuwasa.” Awo Osunieri mutabani wa Kenazi, muto wa Kalebu, n'akilwanyisa n'akiwangula. Kalebu n'amuwa muwala we Akusa amuwase. Ku lunaku olw'embaga ey'obugole bwabwe, Osunieri n'akuutira Akusa okusaba kitaawe amuwe ennimiro. Awo Akusa n'ava ku ndogoyi ye, n'akka wansi. Kalebu n'amubuuza nti, “Oyagala ki?” Akusa n'agamba nti, “Mpa ekirabo; olw'okuba wanteeka mu nsi ey'obukiikaddyo, ompe n'enzizi z'amazzi.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga. Abaana b'Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bagenda n'ab'ekika kya Yuda nga bava e Yeriko ekibuga eky'enkindu, ne balaga mu nsi enkalu eri mu bukiikaddyo obwa Aladi mu Buyudaaya ne bagenda ne batuula n'abantu beeyo. Ab'omu kika kya Yuda ne bagenda ne baganda babwe ab'omu kika kya Simyoni, ne bawangula Abakanani abaali mu kibuga Zefasi, ne bakizikiririza ddala ne bakituuma erinnya Koluma. Era ab'ekika kya Yuda ne bawangula Ggaza, Asukulooni ne Ekuloni ne bitundu ebibyetoolodde. Mukama yali wamu n'abe kika kya Yuda ne bawangula abantu abaali mu nsi ey'ensozi, wabula ne batasobola kuwangula abantu abaatulanga mu bisenyi, kubanga abantu abo balina amagaali ag'ebyuma. Awo Kalebu n'aweebwa Kebbulooni nga Musa bwe yalagira, n'agobamu abaana abasatu ab'Anaki. Naye ab'ekika kya Benyamini ne batagoba ba Yebusi ababeeranga mu Yerusaalemi; naye Abayebusi ne batuula wamu n'ab'ekika kya Benyamini mu Yerusaalemi n'okutuusa kaakano. N'ennyumba ya Yusufu, era n'abo ne balumba Beseri, Mukama n'aba wamu nabo. N'ennyumba ya Yusufu ne batuma abakessi okuketta Beseri, edda ekibuga kyayitibwanga, Luzi. N'abakessi ne balaba omusajja ng'ava mu kibuga, ne bamugamba nti, “Tulage, tukwegayiridde, we tunaayingirira mu kibuga, naffe tunaakukola bulungi.” N'abalaga we banaayingirira mu kibuga, era n'ebatta ab'omu kibuga bonna n'ekitala, okuggyako omusajja oyo n'ab'omu nnyumba ye yonna. Omusajja oyo n'agenda mu nsi ey'Abakiiti, n'azimbayo ekibuga, n'akituuma erinnya Luzi, eryo lye linnya lyakyo ne leero. Ab'ekika kya Manase tebagoba bantu abaatuula mu Besuseani n'ebyalo byakyo, wadde ab'omu Taanaki n'ebyalo byakyo, oba ab'e Doli n'ebyalo byakyo, wamu n'ab'e Ibuleamu ne byalo byakyo, n'ab'omu Megiddo ne byalo byakyo; naye Abakanani ne beeyongera okubeera mu nsi eyo. Awo abaana ba Isiraeri bwe beeyongera okuba ab'amaanyi, ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu, naye ne batabagoberamu ddala. Ab'ekika kya Efulayimu ne batagoba ba Kanani abaatuulanga mu Gezeri; naye Abakanani ne beeyongera okubeera mu Gezeri wamu nabo. Ab'ekika kya Zebbulooni ne batagoba bantu abaatuulanga mu Kituloni, ne Nakaloli; naye Abakanani ne batuula wamu nabo, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu. Ab'ekika kya Aseri ne batagoba bantu abaatuulanga mu bibuga: Akko, Sidoni, Alabu, Akuzibu, Keruba, Afiki ne Lekobu; naye ab'ekika kya Aseri ne batuula wamu n'Abakanani kubanga tebaabagoba mu nsi. Ab'ekika kya Nafutaali ne batagoba bantu abaatuulanga mu Besusemesi, wadde abaatuulanga mu Besuanasi; naye ne batuula wamu n'Abakanani abaali bannannyini nsi; kyokka abaatuulanga mu Besusemesi ne Besuanasi ne babawalirizibwa Abaisiraeri okubakoleranga emirimu. Abamoli baasindiikiriza ab'omu kika kya Ddaani ne babazzaayo mu nsi ey'ensozi, ne batabakkiriza kukka mu lusenyi. Abamoli ne bongera okubeera mu Ayalooni, ne mu Saalubimu ne ku lusozi Eresi. Naye ab'omu kika kya Efulayimu n'ab'omu kika kya Manase ne babasinza amaanyi, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu. Okuva mu bukiikaddyo obwa Seera, ensalo y'Abamoli yayitiranga mu ntikko ya Akulabbimu. Awo malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'agenda e Bokimu. N'ayogera nti, “Nnabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe; ne njogera nti, ‘sirimenya ndagaano yange gye nnalagaana nammwe, mmwe temulagaananga ndagaano n'abo abatuula mu nsi muno; mumenyemenyenga ebyoto byabwe;’ naye mmwe temuwulidde ddoboozi lyange, kiki ekibakozesa bwe mutyo? Nange kyennava njogera nti Siibagobenga mu maaso gammwe naye banaabanga ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, ne ba katonda baabwe banaabanga kyambika gye muli.” Awo olwatuuka malayika wa Mukama bwe yabuulira abaana ba Isiraeri ebigambo ebyo, abantu ne batema emiranga ne bakaaba amaziga. Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo ssaddaaka eri Mukama. Awo Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ne bagenda buli omu mu butaka bwe yagabana. Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna Mukama gwe yakolera Isiraeri. Yoswa omwana wa Nuuni, omuddu wa Mukama, n'afa, nga awangadde emyaka kikumi mu kkumi (110). Ne bamuziika mu butaka bwe e Timunasukeresi, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, mu bukiikakkono obw'olusozi Gaasi. Era n'ab'omulembe ogwo bonna ne bafa. Ne waddawo ab'omulembe ogwaddirira, abataamanya Mukama, wadde ebyo bye yakolera Isiraeri. Awo abaana ba Isiraeri ne bakola ekibi mu maaso ga Mukama ne baweereza Babaali; Ne bava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala ab'amawanga agabeetooloola, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama. Ne baava ku Mukama ne baweereza Baali ne Asutaloosi, Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isiraeri, n'abagabula mu mikono gy'abanyazi abaabanyaga, n'aleka abalabe babwe ababeetoolodde ne babawangula. Abaisiraeri nga tebakyasobola kwetaasa. Gye baatabaalanga yonna, omukono gwa Mukama ne gubaleeteranga akabi, nga Mukama bwe yayogera, era nga Mukama bwe yabalayirira; ne beeraliikirira nnyo. Mukama n'ayimusa abalamuzi abaabalokolanga mu mukono gwabo abaabanyaganga, Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga tebaali beesigwa, bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira; ne baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; naye bo tebaakola bwe batyo. Buli Mukama lwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi oyo, n'abawonyanga abalabe baabwe ebbanga lyonna omulamuzi oyo lye yamalanga nga mulamu; kubanga Mukama yabakwatiranga ekisa olw'okusinda kwabwe olw'abo ababeeraliikirizanga. Naye omulamuzi bwe yafanga, abantu baddanga mu bibi byabwe eby'edda nga bakola bubi n'okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe wadde okulekayo empisa zaabwe embi. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isiraeri; n'agamba nti, “eggwanga lino limenye endagaano gye nnalagaana ne bajjajjaabwe, tebakyampulira; nange okuva leero sikyagobyemu mu nsi mawanga Yoswa ge yalekamu weyafiira, ndyoke ngezese Isiraeri nga mpita mu mawanga ago ndabe oba banaakwatanga amakkubo gange nga bajjajjaabwe bwe bakola oba tebagakwatanga.” N'olw'ekyo Mukama n'aleka ab'amawanga ag'omu nsi eyo, era teyaganya Yoswa kubawangula. Gano ge mawanga Mukama ge yaleka mu nsi, okugezesa Abaisiraeri bonna abataalaba ku ntalo zonna eza Kanani; ekyo yakikola, nga ky'ayagala, kwe kuyigiriza eby'entalo Abaisiraeri aba buli mulembe, naddala abo abaali tebabeerangako mu lutalo. Amawanga agaalekebwa mu nsi ge gano: abakungu abataano ab'Abafirisuuti, n'Abakanani bonna, n'Abasidoni, n'Abakiivi abaatuulanga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumooni okutuusa awayingirirwa mu Kamasi. Baali bakugezesa Abaisiraeri okulaba oba banaawuliranga ebiragiro bya Mukama, bye yalagira bajjajjaabwe nga ayita mu Musa. Abaana ba Isiraeri ne batuula mu Bakanani, Abakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi, ne mu Bayebusi; ne bawasa abakazi mu bantu abo, era ne bafumbizaamu bawala baabwe era ne basinzanga bakatonda baabwe. Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe, ne baaweerezanga Baali ne Asera. Obusungu bwa Mukama ne bubuukira ku Isiraeri, n'abawaayo eri Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya; abaana ba Isiraeri ne baweerereza Kusanurisasaimu emyaka munaana. Awo abaana ba Isiraeri bwe bakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi Osunieri mutabani wa Kenazi, oyo ye yali muto wa Kalebu. Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye, n'alamula Isiraeri. N'agenda mu lutalo, Mukama n'amuwa okuwangula Kusanurisasaimu, kabaka w'a Mesopotamiya. Ensi n'eba n'emirembe okumala emyaka ana (40). Osunieri mutabani wa Kenazi n'afa. Awo abaana ba Isiraeri ne baddamu nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama kyeyava awa Eguloni kabaka wa Moabu amaanyi n'alwana ne Isiraeri, kubanga baali bakoze ekyali mu maaso ga Mukama ekibi. Eguloni n'akuŋŋaanya Abamoni n'Amaleki, nebagenda ne bakuba Isiraeri ne babawambako Yeriko, ekibuga eky'enkindu. Abaana ba Isiraeri ne baweerereza Eguloni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana (18). Nate abaana ba Isiraeri ne baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali ow'enkonokono. Awo abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu. Ekudi ne yeeweeseza ekitala eky'obwogi obubiri, obuwanvu bwakyo omukono gumu; n'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze. N'awa Eguloni kabaka wa Mowaabu ekirabo, Eguloni yali musajja munene nnyo. Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, n'alagira abakyettika okuddayo ewaabwe. Naye Ekudi kennyini nakoma ku mayinja agaali okumpi n'e Girugaali, n'addayo eri Eguloni n'amugamba nti, “Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama gyoli Ayi kabaka.” Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti, “mutuleke fekka!” Bonna ne bava waali ne bafuluma. Kabaka bwe yali ng'atudde yekka mu kisenge kye ekiweweevu eky'okuwummuliramu ekya waggulu, Ekudi n'ajja gy'ali, n'agamba nti, “Nnina obubaka bwo obuvudde eri Katonda.” Kabaka n'asituka ku ntebe ye. Ekudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'aggya ekitala ku kisambi ekya ddyo, n'amufumita olubuto; Ekitala kyonna ne kimubuliramu n'ekiti kyakyo, amasavu ne gazibikira we kiyingiridde. Ekudi teyakisikaamu mu lubuto lwa kabaka, ne kiggukira emabega. Awo Ekudi n'afuluma n'amuggalira mu nju eya waggulu, enzigi n'azisiba. Awo Ekudi bweyagenda, abaddu ba kabaka ne bajja ne balaba ng'ezigi z'ekisenge ekyawaggulu nsibe, ne balowooza nti kabaka mw'ali yeeteewuluzaako mu kasenge akoomunda. Awo bwe balindako akaseera akaweera ne balaba nga taggulawo, kwe kukwata ekisumuluzo ne baggulawo. Ne basanga mukama waabwe ng'agudde wansi afudde. Awo bwe baali nga bakyalindirira, Ekudi n'adduka, n'ayita ku mayinja n'atuuka e Seyiri n'awona. Bwe yatuuka mu nsi ya Efulayimu n'afuuwa ekondeere n'akunga Abaisiraeri. N'abakulembera, ne baserengeta wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi, n'abagamba nti, “Mungoberere; kubanga Mukama agabudde abalabe bammwe Abamowaabu mu mukono gwammwe.” Ne bamugoberera, ne bakwata ekifo Abamowaabu we baali abokusomokera omugga Yoludaani, ne bataganya muntu n'omu okusomoka. Ku mulundi ogwo ne batta mu ba Mowaabu abasajja nga omutwalo gumu (10,000), ab'amaanyi era abazira, ne watabaawo awonawo. Ku lunaku olwo Abaisiraeri ne bawangula Mowaabu. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana (80). Omulamuzi eyaddirira yali Samugali mutabani wa Anasi. Naye yanunula Isiraeri, bwe yatta Abafirisuuti lukaaga (600), n'omuwunda ogusoya ente era naye n'alokola Isiraeri. Ekudi bweyamala okufa, abaana ba Isiraeri ne baddamu nate okukola ekyali mu maaso Mukama ekibi, Mukama n'abagabula mu mukono gwa Yabini, kabaka wa Kanani, eyafugiranga mu Kazoli; n'omugabe w'eggye yali Sisera, eyabeeranga mu Kalosesi eky'ab'amawanga. Yabini yalina amagaali lwenda (900), ag'ebyuma, n'afuga Isiraeri n'obukambwe okumala emyaka abiri (20). Abaisiraeri ne bakaabirira Mukama abayambe. Debola, nnabbi, muka Lappidosi ye yalamulanga Isiraeri mu biro ebyo. Yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola olwali wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi; eyo abaana ba Isiraeri gye bagenda nga okubasalira emisango. Awo n'atumya Balaki mutabani wa Abinoamu mu kibuga Kedesu eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri, akulagidde nti, ‘Twala abasajja omutwalo gumu (10,000), ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Taboli. Sisera omugabe wa Yabini, nja kumuleeta okukulwanyisa ku mugga Kisoni, ajja kujja n'amagaali ge n'abalwanyi be, nange nja kumugabula mu mukono gwo. ’ ” Balaki n'amugamba nti, “Bw'oligenda nange, kale nange ndigenda, naye bw'otoligenda nange, nange sirigenda.” Debola n'amugamba, “Mazima ndigenda naawe, naye ekitiibwa eky'obuwanguzi tekiriba kikyo, kubanga Mukama aligabula Sisera mu mukono gw'omukazi.” Awo Debola n'asituka, n'agenda ne Balaki e Kedesi. Balaki n'akunga ab'ekika kya Zebbulooni n'ekya Nafutaali abasajja omutwalo gumu (10,000), ne bamugoberera ne bakuŋŋaanira e Kedesi; ne Debola n'agenda wamu nabo. Mu kiseera ekyo, Keberi Omukeeni yali yeeyawudde ku Bakeeni banne, abaana ba Kobabu kitaawe wa muka Musa, n'asimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu, okumpi ne Kedesi. Awo bwe babuulira Sisera nti Balaki mutabani wa Abinoamu ayambuse ku lusozi Taboli, Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna, amagaali ag'ekyuma lwenda (900), n'abantu bonna abaali naye, okuva ku Kalosesi eky'ab'amawanga okutuusa ku mugga Kisoni. Debola n'agamba Balaki nti, “Genda! Mukama akukulembedde. Olwaleero akuwadde okuwangula Sisera.” Awo Balaki n'akkirira olusozi Taboli wamu ne basajja be omutwalo gumu (10,000). Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna n'eggye lye lyonna n'eby'okulwanyisa, mu maaso ga Balaki. Sisera n'ava mu ggaali ye, n'addusa bigere. Balaki n'awondera amagaali n'eggye lya Sisera okutuuka e Kalosesi eky'ab'amawanga; eggye lya Sisera lyonna nerisanyizibwawo, newatasigala muntu. Naye Sisera n'adduka n'ebigere n'atuuka mu weema ya Yayeeri muka Keberi Omukeeni; kubanga Yabini kabaka we Kazoli n'ennyumba ya Keberi Omukeeni baali balina emirembe. Yayeeri n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti, “Kyama, mukama wange, oyingire ewange; totya.” N'akyama n'ayingira ewuwe mu weema n'amubikkako ekikunta. N'amugamba nti, “Nkwegayiridde, mpa otuzzi nnywe; kubanga ennyonta ennuma.” N'asumulula eddiba ery'amata, n'amunywesa, n'amubikkako. N'amugamba nti, “Yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti, ‘Omusajja yenna ali muno?’ naawe onooyogera nti Nedda.” Awo Yayeeri muka Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n'ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa. Balaki bwe yajja ng'awondera Sisera, Yayeeri n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw'onoonya.” Awo Balaki n'ayingira ne Yayeeri, n'asanga Sisera ng'agaŋŋalamye afudde, nga n'enkondo ekomereddwa mu kyenyi kye. Bw'atyo ku lunaku olwo, Katonda n'awa Abaisiraeri okuwangula Yabini kabaka wa Kanani. Omukono gw'abaana ba Isiraeri ne gweyongerayongera okunyigiriza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririza ddala. Debola ne Balaki mutabani wa Abinoamu ne bayimba oluyimba luno nti; “Mumwebaze Mukama, kubanga abakulembeze mu Isiraeri baamalirira okulwana, era n'abantu ne beewaayo nga beeyagalidde.” Muwulire, mmwe bakabaka; mutege amatu, mmwe abalangira; Nze, nze, nnaayimbira Mukama; Naayimba okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri. Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri, Bwe wava mu nnimiro ya Edomu okutabaala, Ensi n'ekankana, eggulu ne litonnyesa enkuba ng'efukumuka okuva mu bire, Ensozi nezikankanira mu maaso ga Mukama, Ggwe Sinaayi oli mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isiraeri. Mu mirembe gya Samugali mutabani wa Anasi, Mu mirembe gya Yayeeri, enguudo zeewalibwanga, ng'abatambuze bayita mu mpenda. Ebyalo byafuuka matongo, Okutuusa ggwe Debola bwe wajja, nga nnyina wa Isiraeri. Abaisiraeri bwe baweereza bakatonda abalala; Olwo entalo ne zibaawo mu Isiraeri. Mu basajja emitwalo ena (40,000) Isiraeri, Waliwo eyatabaala n'engabo oba n'effumu? Omutima gwange gubalowooza abafuga Isiraeri, abeewaayo bokka mu bantu nga beeyagalidde. Mwebaze Mukama. Mukyogereko, mmwe abeebagala ku ndogoyi enjeru, Mmwe abatuula ku biwempe ebidalize, Nammwe abatambula mu kkubo. Muwulirize eddoboozi ly'abayimbi abali ku nzizi za mazzi, Boogera ku buwanguzi Mukama bwe yawa Abaisiraeri. Awo abantu ba Mukama ne bakumba nga balaga ku miryango. Zuukuka, zuukuka, Debola; Zuukuka, zuukuka, okoleeze oluyimba! Golokoka Balaki mutabani wa Abinoamu, kulembeeramu abasibe b'owambye! Awo abakungu abasigalawo ne baserengeta abantu ba Mukama ne baserengeta ku lulwe okulwanyisa ab'amaanyi. Mu Efulayimu n'evaayo abasibuka mu Amaleki; nga bakugoberera ggwe Benyamini ne baganda bo. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate okuva Zebbulooni n'evaayo abakungu abakwata omuggo gw'oyo asimbisa ennyiriri. N'abakulembeze ba Isakaali ne bajja ne Debola; nga bali bumu ne Balaki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'ekika kya Lewubeeni baateesa ne batasalawo oba nga banaagenda. Baasigalira ki mu bisibo by'endiga, okuwuliriza emirere gye bafuuyira amagana? Mu bitundu bya Lewubeeni waliwo okwenoonya okukulu okw'omu mutima, ne batasalawo oba nga banaagenda. Ab'omu Kika kya Gaadi baasigala mitala wa Yoludaani. Ab'omu Kika kya Ddaani baasigalira ki mu maato? Ab'omu Kika kya Aseri baasirikira eri ku lubalama lw'ennyanja, beesigalira ku mwalo. Zebbulooni be bantu abawaayo obulamu bwabwe okutuusa okufa, Ne Nafutaali n'alwanira mu bifo eby'ensozi. Bakabaka balwanira e Taanaki ku mazzi g'e Megiddo. Bakabaka b'e Kanani balwana, ne batafuna munyago gwa feeza. Emmunyeenye mu bbanga zaalwana mu lugendo lwazo, zaalwanyisa Sisera. Omugga Kisoni gwabatwalira ddala, Omugga ogwo ogw'edda, omugga Kisoni. Ggwe obulamu bwange, tambula n'amaanyi. Olwo embalaasi ne ziduma, ng'ebinuulo byazo bisambirira ettaka! Mukolimire Merozi, bw'ayogera malayika wa Mukama, Mukolimire nnyo abaatuula omwo; Kubanga tebadduukirira Mukama, mu kulwanyisa ab'amaanyi. Aliba n'omukisa Yayeeri okusinga abakazi, Muka Keberi Omukeeni. Aliba n'omukisa okusinga abakazi mu weema. Yasaba amazzi, n'amuwa amata; N'amuleetera omuzigo mu kibya eky'ekikungu. Yakwasa omukono enkondo, Yakwasa omukono gwe ogwa ddyo ennyondo ey'omukozi; N'akuba Sisera ennyondo, yakomerera omutwe, Weewaawo, yamufumita ekyenyi enkondo n'eyitamu. Ku bigere bye n'akutama n'agwa n'agalamira; We yakutamira we yagwira ddala ng'afudde. Nnyina Sisera yalingiza mu ddirisa n'ayogerera waggulu, Nti ekirwisizza eggaali lye okujja kiki? Kiki ekirwisizza eggaali lye okudda Abakyala be ab'amagezi ne bamuddamu, Weewaawo naye neyeddamu yekka, Tebaluddeyo lwa munyago gwe bakuŋŋaanya bagabane? Buli musajja omuwala omu oba babiri; Engoye ennungi za Sisera, nfuneyo ez'emidalizo nange? Bwe batyo, ai Mukama abalabe bo bonna bazikirirenga; Naye abo bonna abakwagala babe ng'enjuba bw'evaayo mu maanyi gaayo. Awo ensi ne baamu emirembe okumala emyaka ana (40). Awo abaana ba Isiraeri ne baddamu nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama n'abagabula eri Abamidiyaani ne babafugira emyaka musanvu (7). Abamidiyaani ne banyigiriza nnyo Abaisiraeri; abaana ba Isiraeri kyebaava beekolera obuyu ku nsozi okwekwekamu era n'ebekwekanga ne mu mpuku ne mu bifo ebyekusifu. Kubanga Abaisiraeri buli lwe baamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba baasitukiranga wamu ne babalumba. Baabazindanga ne bazikiriza ebirime byabwe, okutuukira ddala okumpi n'e Gaaza, ne batalekangawo kya kulya mu Isiraeri, wadde endiga oba ente oba endogoyi. Bajjanga n'ente zaabwe n'eweema zaabwe, nga bali ng'enzige ezitabalika obungi, bo bennyini n'eŋŋamira zaabwe, ne bayingira mu nsi, ne bagizikiriza. Isiraeri n'ajeezebwa nnyo Abamidiyaani; abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama. Awo abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama olwa Midiyaani, Mukama n'atuma nnabbi eri abaana ba Isiraeri n'abagamba nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, nnabaggya mu Misiri gye mwali mufugibwa obuddu; era n'abawonya obuyinza, bw'Abamisiri n'obuyinza obwabo bonna ababajogeranga mu nsi eno mwe muli, ne mbagoba mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe; ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe; temusinzanga bakatonda b'Abamoli ba nannyini nsi gyemutulamu,’ naye ne mutawulira ddoboozi lyange.” Malayika wa Mukama n'ajja, n'atuula wansi w'omwera ogwa Yowaasi Omwabiezeri: Gidyoni mutabani we yali mussogolero nga awuula eŋŋaano agikise Abamidiyaani. Malayika wa Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti, “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi omuzira.” Gidyoni n'amugamba nti, “Mukama wange, oba Mukama ali wamu naffe, kale lwaki tutuukibwako bino byonna? Era eby'amagero byeyakolanga bajjajjaffe bwe batunyumizanga nti, ‘Mukama yabagya mu Misiri biri ludda wa?’ ” Naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani. Mukama n'amutunuulira n'ayogera nti, “Genda n'amaanyi go gano, olokole Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani; si nze nkutumye?” N'amugamba nti, “Ayi Mukama wange, Isiraeri ndimulokola ntya? Kubanga baganda bange be basinga okuba abanafu mu Manase, nange nze nsinga obuto mu nnyumba ya kitange.” Mukama n'amugamba nti, “Mazima ndibeera wamu naawe, era olyanguyirwa okuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.” N'amugamba nti, “Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, kale ndaga akabonero nga ggwe wuuyo ayogera nange. Nkwegayiridde tova wano, mmale okukuleetera ekirabo.” N'agamba nti, “Nja kubeera wano okutuusa lw'onookomawo.” Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta; ennyama n'agiteeka mu kibbo, omucuuzi gwayo n'aguteeka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa. Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino, obifukeko omucuuzi gw'ennyama.” N'akola bw'atyo. Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gwokya ennyama n'emigaati; malayika wa Mukama n'abulawo. Gidyoni n'amanya nga gw'alabye abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti, “Zinsanze, ayi Mukama, Katonda, kubanga ndabye malayika wo maaso na maaso!” Mukama n'amugamba nti, “Emirembe gibe gy'oli; totya: tojja kufa.” Gidyoni n'azimbira Mukama ekyoto mu Ofula eky'Ababiezeri n'akituuma erinnya Yakuwasalumu; n'okutuusa leero kikyaliyo. Mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Kwata ente endala ennume ey'emyaka omusanvu (7), omenyewo ekyoto, kitaawo kye yazimbira Baali, otemeeteme n'empagi ya Asera eri okumpi nakyo. Ozimbire Mukama Katonda wo ekyoto waggulu ku kigo kino, ng'okozesa amayinja agatereezeddwa obulungi. Oddire ente eyo eyokubiri, oweeyo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuti gwa Asera gw'onootemaatema.” Awo Gidyoni n'atwala abasajja kkumi (10), ku baddu be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde; naye olw'okutya ab'ennyumba ya kitaawe n'abasajja ob'omukibuga, n'atayinza kukola bw'atyo emisana, kyeyava akikola ekiro. Abasajja ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi ng'atemeddwatemeddwa, n'ente eyo eyokubiri ng'eweereddwayo ku kyoto ekizimbiddwa. Ne beebuzaganya nti, “Ani akoze kino?” Awo bwe baabuuliriza era ne bakemereza, ne boogera nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi ye y'akikoze.” Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Fulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyemenye ekyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye Asera akibadde okumpi.” Yowaasi n'agamba bonna abaamulumba nti, “Mwagala kuwolereza Baali oba mwagala kumulwanirira? Ayagala okumuwolereza wakuttibwa nga bukyali bwankya; oba nga ye Katonda yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye.” Okuva olwo Gidyoni n'ayitibwa Yerubbaali, kubanga Yowaasi yagamba nti, “Baali yeewolereze kubanga ekyoto kye kyebamenye.” Awo Abamidiyaani bonna n'Abamaleki n'abatuuze ab'ebuvanjuba ne bakuŋŋaana wamu; ne basomoka omugga Yoludaani, ne basiisira mu kiwonvu eky'e Yezuleeri. Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Gidyoni; n'afuuwa ekkondeere; Ababiezeri n'ebajja gy'ali. N'atuma ababaka okubuna Manase yonna; era nabo ne bajja gy'ali. N'atuma ababaka eri Aseri, Zebbulooni ne Nafutaali nabo ne bajja gyali. Gidyoni n'agamba Katonda nti, “Oba nga olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera, laba bwe n'ateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; omusulo ne guba ku byoya byokka ng'ettaka lyonna kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera.” Awo bwe kyali bwe kityo. Awo Gidyoni bw'eyagolokoka enkya ku makya n'akamula ebyoya by'endiga ne muvaamu amazzi agajjuza ekibya. Gidyoni n'agamba Katonda nti, “Obusungu bwo buleme okumbuubuukirako, leka njogereyo omulundi gumu gwokka. Nzikiriza ngezese ebyoya by'endiga omulundi gumu gwokka, ku mulundi guno, ebyoya by'endiga bibe bikalu, ettaka lye liba litoba omusulo.” Ekiro ekyo, Katonda n'akola bw'atyo. Enkeera ku makya ebyoya by'endiga byokka bye byali ebikalu, ettaka lyonna nga lye litobye omusulo. Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka ku makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; n'olusiisira lwa Midiyaani lwali mu kiwonvu ku luuyi lwabwe olw'obukiikakkono ku mabbali g'olusozi Mole. Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Abantu abali naawe bayitiridde obungi nze okuwa okuwangula Abamidiyaani, kubanga Abaisiraeri bayinza okunneenyumiririzaako nga bagamba nti, ‘bawangudde lwa maanyi gaabwe.’ Kale nno kaakano langirira mu bantu nti, ‘Buli atya era akankana, addeyo ewaabwe, ave ku lusozi Gireyaadi.’ ” Awo abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000) ne baddayo ewaabwe, abantu omutwalo gumu (10,000) ne basigala. Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Abantu bakyali bangi; baserengese ku mazzi nange n'abakugeresezza eyo; awo olunaatuuka, eyo gwe nnaakugamba nti, ‘anaagenda naawe,’ ye anaagenda naawe; n'oyo gwe nnaakugamba nti, ‘taagende naawe,’ era taagende naawe.” Gidyoni n'aserengesa abantu ku mazzi. Mukama n'amugamba nti, “Buli anaakomba amazzi n'olulimi lwe ng'embwa bw'ekomba, mwawule ku buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa amazzi.” N'omuwendo gw'abo abaakomba n'olulimi, nga batadde engalo ku mumwa, baali abasajja bisatu (300), naye abantu abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi. Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Nnaabalokola n'abasajja bisatu (300) abaakombye n'olulimi, ne ngabula Abamidiyaani mu mukono gwo; naye abantu abalala bonna beddireyo ewaabwe.” Gidyoni n'asindika Abaisiraeri bonna baddeyo ewaabwe, okuggyako ebisatu (300), be yasigala nabo, ne basigaza eby'okulya byonna n'eŋŋombe; n'olusiisira lwa Midiyaani lwali wansi mu kiwonvu. Ekiro ekyo, Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Golokoka olumbe olusiisira; kubanga ndugabudde mu mukono gwo. Naye oba ng'otidde, genda ne Pula omuddu wo oserengete mu lusiisira; Ojja kuwulira bye boogera, olyoke ofune amaanyi okulumba olusiisira.” Awo Gidyoni n'aserengeta n'omuddu we Pula ku njegoyego y'olusiisira lw'omulabe. Abamidiyaani n'Abamaleki n'abantu b'omu Buvanjuba, baali babisse ekiwonvu, nga bali ng'enzige obungi, era n'eŋŋamira ze balina butabalika, ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja. Gidyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti, “Nnaloose omugaati gwa Sayiri, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.” Munne n'addamu n'ayogera nti, “Ekyo kitala kya Gidyoni mutabani wa Yowaasi omusajja wa Isiraeri so si kirala, mu mukono gw'oyo Katonda mw'agabudde Midiyaani n'eggye lye lyonna.” Awo olwatuuka Gidyoni bwe yawulira ekirooto n'amakulu gaakyo, n'asinza; n'addayo mu lusiisira lwa Isiraeri n'ayogera nti, “Mugolokoke; kubanga Mukama agabudde egye lya Midiyaani mu mukono gwammwe.” N'ayawulamu abasajja bali bisatu (300), n'abagabanyamu ebibinja bisatu (3), buli omu n'amuwa ekondeere n'ensuwa enkalu nga erimu ekitawuliro. N'abagamba nti, “Mulabire ku nze, nammwe mukole nga bwe nkola, bwe nnaatuuka okumpi n'olusiisira nga bwe nnaakola nammwe bwe munaakola. Nze nabo abali nange, bwe tunaafuuwa amakkondeere, nammwe ne mulyoka mufuuwa agammwe ku njuuyi zonna ez'olusiisira ne mulekana nti, ‘ba Mukama era ba Gidyoni.’ ” Awo Gidyoni n'abasajja kikumi (100), abaali naye ne batuuka kumpi n'olusiisira ekiro mu ttumbi nga kye bajje basseewo abakuumi, ne bafuuwa amakkondeere, ne baasa n'ensuwa, ze baali bakutte. Ebibinja byonna ebisatu ne bafuuwa amakkondeere, ne baasa ensuwa, nga bakutte emimuli mu mikono gyabwe egya kkono, n'amakondeere ag'okufuuwa mu gya ddyo, ne baleekaana nti, “Ekitala kya Mukama era kya Gidyoni!” Ne bayimirira buli muntu mu kifo kye nga beetooloode olusiisira, eggye lyonna ery'Abamidiyaani neridduka nga bwe baleekaana. Abasajja ba Gidyoni bwe bafuuwa amakkondeere gaabwe, Mukama naaleetera ab'eggye ly'omulabe okufumitagana bokka na bokka, buli omu nga alwanyisa munne n'ekitala; eggye ne lidduka okutuuka ku Besusitta mu kkubo ly'e Zerera, okutuuka ku nsalo ya Aberumekola ku mabbali g'e Tabbasi. Abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaanyizibwa okuva mu bika ekya Nafutaali, eky'Aseri ne kya Manase kyonna ne bawondera Abamidiyaani. Gidyoni n'atuma ababaka okubuna ensi yonna eya Efulayimu ey'ensozi nga ayogera nti, “Mujje mugende mutayize Abamidiyaani okuva ku mugga Besubala okutuuka ku Yoludaani.” Awo abasajja bonna aba Efulayimu ne bakuŋŋaanyizibwa, era ne bakwata ebitundu by'amazzi okutuukira ddala e Besubala, era ne Yoludaani. Ne bawamba abalangira ba Midiyaani bombi, Olebu ne Zeebu; Olebu ne bamuttira ku jjinja lya Olebu, ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero lya Zeebu. Ne bongera okuwondera Abamidiyaani; emitwe ogwa Olebu n'ogwa Zeebu ne bagireetera Gidyoni emitala wa Yoludaani. Abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watukola bw'otyo, n'ototuyita nga ogenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bayomba nnyo naye. N'abaddamu nti, “Nze kye nkoze kitono nnyo bw'okigerageranya n'ekyammwe. Ezabbibu Efulayimu z'akungudde ng'addamu tezisinga ezo obungi Abiyezeeri z'akungudde? Katonda abawadde okuwangula n'okutta abalangira ababiri Ababamidiyaani, Olebu ne Zeebu; era nze nnandiyinzizza kukola ki okukyenkanyankanya nammwe?” Bweyamala okwogera ebyo, obusungu bwabwe ne bukkakkana. Gidyoni n'atuuka ku Yoludaani, n'asomoka, ye n'abasajja bisatu (300) abaali naye, nga bakooye, naye nga bakyagoberera. N'agamba abasajja ab'omu Sukkosi nti, “Mbeegayiridde abasajja abali nange mubawe ku migaati, kubanga bakooye, era nkyawondera Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani.” Abalangira b'e Sukkosi ne boogera nti, “Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, tulyoke tuwe eggye lyo emigaati?” Gidyoni n'ayogera nti, “Kale Mukama bw'alimala okugabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ne ndyoka mbakubisa amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo.” Awo Gidyoni n'avaayo n'ayambuka e Penueri, n'abaayo n'abagamba ebigambo bye bimu; abasajja abe Penueri nabo ne bamuddamu nga abe Sukkosi bwe baddamu. N'agamba abasajja ab'omu Penueri nabo nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyamenya ekigo kino.” Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe eryafikkawo abasajja omutwalo gumu n'ekitundu (15,000), kubanga abalwanyi abalala emitwalo kkumi n'ebiri (120,000) baali bafudde. Gidyoni n'ayambukira mu kkubo ery'ebuvanjuba bwa Noba n'e Yogubeka, n'azindukirizza eggye nga terimanyiridde. Zeba ne Zalumunna bakabaka bombi abe Midiyaani ne badduka; n'abawondera; n'abawamba, egye lyonna ne litya nnyo. Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi bwe yali ava ku lutalo n'ayitira e Keresi. N'awamba omuvubuka ow'omu Sukkosi, n'amubuuza ebifa ku balangira ab'e Sukkosi; awo omuvubuka n'amuwandiikira amanya nsanvu mu musanvu (77), agabalangira n'abakadde baayo. Awo Gidyoni n'agenda eri ab'e Sukkosi n'abagamba nti, “Mulabe Zeba ne Zalumunna, kwe mwayima okunduulira nga mwogera nti, ‘Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe tulyoke tuwe abasajja bo abakooye emigaati?’ ” N'addira amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo n'akuba abakadde ab'omu Sukkosi. N'agenda e Penueri n'amenyamenya ekigo kyayo, n'atta n'abasajja ab'omu kibuga. Awo n'alyoka agamba Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne baddamu nti, “Baali bafaanana nga ggwe, nga bali ng'abaana ba kabaka.” N'ayogera nti, “Baali baganda bange, abaana ba mmange; nga Mukama bw'ali omulamu, singa temwabatta nange sandibasse.” N'agamba Yeseri mutabani we omubereberye we nti, “Situka obatte.” Naye omuvubuka naatya n'atasowola kitala kye kubanga yali akyali muto. Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidyoni nti, “Ggwe situka otutte, kubanga ekikolwa ng'ekyo kikolwa omusajja muzira nga ggwe.” Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala amajolobera agaali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe. Abasajja ba Isiraeri ne balyoka bagamba Gidyoni nti, “Ggwe tufuge ne mutabani wo ne muzzukulu wo, kubanga otulokodde mu mukono gwa Abamidiyaani.” Gidyoni n'abagamba nti, “Nze sigenda kubafuga, so ne mutabani wange tagenda kubafuga; Mukama y'anaabafuganga.” Naye Gidyoni n'abagamba nti, “Mbasaba buli muntu ampe empeta ez'omu matu ze yanyaga.” Kubanga Abaisimaeri bayambalanga empeta eza zaabu mu matu gaabwe. Ne baddamu nti, “Tunaaziwa, si lwa mpaka.” Ne baalaawo ekyambalo, ne basuulako buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga. N'obuzito bw'empeta ez'omu matu eza zaabu ze yasaba bwali sekeri za zaabu lukumi mu lusanvu (1,700) nga totaddeko majolebera n'ebyambalo eby'e fulungu bakabaka be Midiyaani bye baali bambadde ne mikuufu egyali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe. Gidyoni n'abikolamu ekifaananyi eky'ekkanzu n'abiteeka mu kibuga kye, Ofula; Isiraeri yenna ne bava ku katonda ne bagenda ne bakisinza, kino ne kifuukira Gidyoni n'ab'omu maka ge ekyambika. Awo Midiyaani newangulwa abaana ba Isiraeri netaddamu kubeera kizibu gyebali. Ensi ne baamu emirembe okumala emyaka ana (40), okutuusa Gidyoni lwe yafa. Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'agenda mu nnyumba ye ye. Era Gidyoni yalina batabani be, be yazaala abaava mu ntumbwe ze nsanvu (70), kubanga yawasa abakazi bangi. N'omuzaana we eyali Sekemu naye n'amuzaalira omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Abimereki. Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'akaddiye bulungi, ne bamuziika mu ntaana ya Yowaasi kitaawe, mu Ofula eky'Ababiezeri. Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamala okufa amangu ago abaana ba Isiraeri ne baava ku Katonda ne basinza Baali, ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe. Abaana ba Isiraeri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe, eyabawonya mu mukono gw'abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna; so tebaalaga kusiima ba nnyumba ya Yerubbaali ye Gidyoni, olw'ebirungi byonna Gidyoni bye yakolera Isiraeri. Abimereki mutabani wa Yerubbaali n'agenda e Sekemu ku bukojjaabwe n'agamba ab'oluganda lwa nnyina bonna nti, “Mbeegayiridde, mwogere abantu bonna ab'e Sekemu nga bawulira; mubabuuze nti, ‘kiriwa ekisinga obulungi; batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu (70), okubafuganga oba omu okubafuganga?’ Era mujjukire nga nze ndi wa musaayi gwammwe.” Ab'oluganda lwa nnyina ne boogera ebigambo ebyo byonna ku lulwe nga abantu be Sekemu bawulira; ne basalawo okugoberera Abimereki, kubanga baagamba nti, “Ye muganda waffe.” Ne bamuwa ebitundu ebya ffeeza nsanvu (70), bye baggya mu nnyumba ya Baaluberisi. Abimereki n'abikozesa okupangisa abasajja abalalulalu ne bamugoberera. N'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula, n'attira baganda be ensanvu (70) batabani ba Yerubbaali ku jjinja limu, naye Yosamu mutabani wa Yerubbaali omuto n'awona; kubanga yeekweka. Abasajja bonna abe Sekemu n'ab'Ebesimillo ne bakuŋŋaana ne bafuula Abimereki kabaka, awali omwera oguliraanye empagi eyali mu Sekemu. Awo bwe baakibuulira Yosamu, n'agenda n'ayimirira ku ntikko y'olusozi Gerizimu, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Mumpulire, mmwe abasajja ab'omu Sekemu nammwe Katonda alyoke abawulire. Awo olwatuuka emiti negikuŋŋaana okufuka amafuta ku kabaka anaagifuganga; ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ggwe tufuge.’ Naye omuzeyituuni ne gugigamba nti, ‘N'andirese obugimu bwange mwe bayima okussaamu ekitiibwa Katonda n'abantu ku bwange, ne ŋŋenda okufuga emiti?’ Emiti ne gigamba omutiini nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’ Naye omutiini ne gugigamba nti, ‘N'andirese obuwoomerevu bwange n'ebibala byange ebirungi, ne ŋŋenda okufuga emiti?’ Emiti ne gigamba omuzabbibu nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’ Omuzabbibu ne gugigamba nti, ‘N'andirese omwenge gwange, ogusanyusa Katonda n'abantu, ne ŋŋenda okufuga emiti?’ Awo emiti gyonna ne giryoka gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’ Omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Oba nga munanfukako amafuta okuba kabaka wammwe ddala, kale mujje mwewogome mukisiikirize kyange; naye oba nga si bwe kityo. Omuliro guve mu mweramannyo gwokye emivule gyonna egy'omu Lebanooni.’ Kale nno, oba nga mwakola eby'amazima n'eby'obutuukirivu, okufuula Abimereki kabaka, era oba nga mwakola bulungi Yerubbaali n'ennyumba ye, ne mubasasula olw'ebirungi byeyabakolera; kubanga kitange yabalwanirira, n'awaayo obulamu bwe, n'abawonya mu mukono gwa Midiyaani; naye mmwe leero mwefulidde ennyumba ya kitange era mwattira batabani be ensanvu (70) ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki, mutabani w'omuzaana we, kabaka w'abantu ab'omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe; kale oba nga musasudde Yerubbaali n'ennyumba ye eby'amazima n'eby'obutuukirivu, kale musanyukire Abimereki, era naye abasanyukire mmwe; naye oba nga si bwe kiri, kale omuliro guve mu Abimereki gwokye abantu ab'omu Sekemu n'ab'omu Besimmiiro; era omuliro guve mu bantu ab'omu Sekemu n'ab'omu Besimmiiro gwokye Abimereki.” Yosamu n'adduka n'agenda e Beeri n'abeera eyo, olw'okutya Abimereki muganda we. Abimereki n'amala emyaka esatu (3) nga y'afuga Isiraeri Katonda n'atuma omuzimu omubi okwawukanya Abimereki n'abasajja ab'omu Sekemu; abasajja ab'omu Sekemu ne basalira Abimereki enkwe; Ekyo kyabaawo Abimereki n'abasajja abe Sekemu abaamuwagira okutta bagandabe, batabani ba Yerubbaali ensanvu (70), n'obukambwe balyoke basasulwe era omusaayi gwabwe gubeere ku Abimereki. Abasajja ab'omu Sekemu ne bassaawo abateezi okumuteegeranga ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna abaayitanga mu kkubo eryo gye baali; ne kibuulirwa Abimereki. Awo Gaali mutabani wa Ebedi n'ajja ne baganda be, nebagenda e Sekemu; abasajja ab'omu Sekemu ne bamwesiga. Ne bagenda mu nnimiro, ne bakungula ezabbibu zaabwe, ne bazisogolamu omubisi, ne bafumba embaga, ne bayingira mu ssabo lya lubaale waabwe, ne balya ne banywa, ne bakolimira Abimereki. Gaali mutabani wa Ebedi n'ayogera nti, “Abimereki y'ani? Lwaki ffe abe Sekemu tumuweereza? Ssi ye mutabani wa Yerubbaali? Yee abaffe Zebbuli omumyuka we ye ani? Munywerere ku Kamoli kitaawe wa Sekemu omukulu we kika kyaffe. Lwaki tuweereza Abimereki oyo? Era singa nze mukulembeze w'abantu bano, nandiggyeewo Abimereki! Nandigambye Abimereki nti, ‘Teekateeka eggye lyo, weesowoleyo olwane.’ ” Awo Zabbuli omukulu w'ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n'asunguwala nnyo. N'atuma ababaka eri Abimereki mu kyama, ng'ayogera nti, “Laba, Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu; bajeemesa abantu b'omu kibuga bakulwanyise. Kale nno, golokoka kiro, ggwe n'abantu abali naawe, muteegere mu nnimiro. Awo olunaatuuka ku makya enjuba nga kyejje eveeyo, onoogolokoka n'olumba ekibuga; awo Gaali na bali naye bwe banafuluma okulwana naawe, n'olyoka obakubira ddala nga bwosobola.” Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka kiro, ne bateega ekibuga Sekemu nga beeyawuddemu ebibinja bina. Gaali mutabani wa Ebedi n'afuluma, n'ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga; Awo Abimereki n'abantu be yali nabo ne bava we baali baategedde. Awo Gaali bwe yalaba abantu, n'agamba Zabbuli nti, “Laba, abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi.” Zabbuli n'amugamba nti, “Olaba kisiikirize ky'ensozi, kye kifaanana ng'abantu.” Gaali n'agamba nate nti, “Laba abantu bakkirira nga bayitira mu muwaatwa gw'olusozi, n'ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery'oku mwera gw'abalaguzi.” Awo Zabbuli n'alyoka agamba Gaali nti, “Akamwa ko kaakano kali ludda wa kubanga wagamba nti, ‘Abimereki ye ani, ffe okumuweereza?’ Bano si be bantu be wanyooma? Kale nno kaakano fuluma olwane nabo.” Awo Gaali n'akulembera abasajja ab'omu Sekemu n'afuluma okulwana ne Abimereki. Abimereki n'amugoba, Gaali n'adduka, Abimereki n'amuwondera okutuuka ku mulyango ogwa wankaaki. Bangi ne bagwa nga bafumitiddwa. Abimereki n'abeera mu Aluma; Zabbuli n'agobamu Gaali ne baganda be, baleme okubeeranga mu Sekemu. Ku lunaku olwaddirira, Abimereki naakitegeera nti abantu beetegeka okugenda mu nnimiro. Awo n'atwala abantu n'abaawulamu ebibinja bisatu, n'ateegera mu nnimiro naalinda. Awo abantu bwe bafuluma mu kibuga n'abagolokokerako, n'abakuba. Abimereki n'ebibinja ebyali naye ne bafubutuka, ne bayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga; ebibinja ebibiri ebirala ne bifubutukira ku bonna abaali mu nnimiro ne babakuba. Abimereki n'azibya obudde ku lunaku olwo ng'alwana n'ekibuga; n'akikuba, n'atta abantu abaalimu; n'amenyamenya ekibuga, n'akiyiwamu omunnyo. Abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo, ne bayingira mu kinnya eky'omu ssabo lya Eruberisi. Ne babuulira Abimereki ng'abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bakuŋŋaanye. Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye ne balinnya ku lusozi Zalumoni; Abimereki n'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, naalikwata naalissa ku kibegabega kye, n'agamba abantu abaali naye nti, “mwanguwe mukole nga bwe nkoze.” Awo buli omu n'atema ettabi ku muti, n'agoberera Abimereki. Ne batuuma amatabi ku kinnya kiri. Ne bakikumako omuliro. Abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu ne bafiiramu, abasajja n'abakazi nga lukumi (1,000). Awo Abimereki n'agenda n'azingiza Sebezi, n'akiwamba. Mu kibuga omwo, mwalimu ekigo eky'amaanyi, awo abasajja n'abakazi bonna ab'omukibuga ne baddukira omwo ne beggalira, ne balinnya ku kasolya k'ekigo. Awo Abimereki n'alumba ekigo okukirwanyisa, n'asemberera oluggi lw'ekigo alwokye omuliro. Awo omukazi omu n'asuula olubengo ku mutwe gwa Abimereki n'agwasa. Awo n'ayanguwa n'ayita omulenzi eyakwatanga eby'okulwanyisa bye, n'amugamba nti, “Sowola ekitala kyo, onzite, abantu balemenga okunjogerako nti, ‘Omukazi ye yamutta.’ ” Omulenzi we n'amufumita, n'afa. Abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga Abimereki afudde, ne baddayo buli muntu ewaabwe. Katonda bwatyo bweyawalana eggwanga ku Abimereki, olw'ekikolwa kyeyakola eky'okutta baganda be ensanvu (70). Katonda era n'abonereza abantu b'omu Sekemu olw'ekibi kyabwe ne Yosamu mutabani wa Yerubbaali ekikolimo kyeyabakolimira ne kituukirira. Awo Abimereki bweyamala okufa, Tola mutabani wa Puwa muzzukulu wa Dodo, ow'omukika kya Isakaali n'agolokoka okulokola Isiraeri; yabeera nga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi. N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu esatu (23), n'afa, ne bamuziika mu Samiri. Oluvannyuma lwa Tola newaddawo Yayiri Omugireyaadi; n'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu ebiri (22). Era yalina batabani be asatu (30), abeebagalanga abaana b'endogoyi asatu (30), nabo baalina ebibuga asatu (30), bye bayita Kavosuyayiri okutuusa leero, ebiri mu nsi ya Gireyaadi. Yayiri n'afa ne bamuziika mu Kamoni. Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama, ne baweereza bakatonda abalala, Babaali, Asutaloosi, bakatonda be Busuuli, bakatonda be Sidoni, bakatonda ba Mowaabu, bakatonda ba Amoni, ne bakatonda b'Abafirisuuti; ne bava ku Mukama ne batamuweereza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abagabula mu mukono gw'Abafirisuuti n'ogw'Abamoni ne babafuga. Omwaka ogwo ne banyigiriza era ne bajooga abaana ba Isiraeri, ne baajoogera abaana ba Isiraeri emyaka kkumi na munaana (18), bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi. Abaana ba Amoni ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda, Benyamini n'ekika kya Efulayimu; abaana ba Isiraeri ne beeraliikirira nnyo. Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama nga boogera nti, “Twakusobya kubanga twava ku Katonda waffe ne tuweereza Babaali.” Mukama n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Saabalokola eri Abamisiri n'eri Abamoli, eri abaana ba Amoni n'eri Abafirisuuti? Era Abasidoni, Abamaleki n'Abamoni bwe baabajooga, ne munkaabira ne mbalokola mu mukono gwabwe. Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala; kyennava nnema okubalokola nate. Mugende mukaabire bakatonda be mwalonda; bo babalokolenga mu biro eby'okunakuwala kwammwe.” Abaana ba Isiraeri ne bagamba Mukama nti, “Twayonoona; tukole kyonna ky'onoolaba nga kirungi, kyokka tuwonye leero, tukwegayiridde.” Ne beggyako bakatonda abalala be baweerezanga; Omwoyo gwa Mukama ne gumuluma olw'okubonaabona kw'abaana ba Isiraeri. Awo abaana ba Amoni ne balyoka bakuŋŋaana ne basiisira mu Gireyaadi. Abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu Mizupa. Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti, “Ani anaakulembera olutalo okulwanyisa abaana ba Amoni? Oyo y'anaafuga Gireyaadi.” Yefusa Omugireyaadi yali musajja wa maanyi era omuzira, omwana w'omukazi omwenzi, kitaawe nga ye Gireyaadi. Gireyaadi yalina mukazi we eyamuzaalira abaana abalenzi abalala; abalenzi abo bwe bakula, ne bagoba Yefusa awaka, nga bagamba nti, “Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala.” Awo Yefusa n'alyoka adduka baganda be, n'abeera mu nsi ye Tobu, abasajja abalalulalu ne begatta ne Yefusa ne batabaalanga naye. Awo olwatuuka ekiseera bwe kyayitawo abaana ba Amoni ne balwana ne Isiraeri. Awo olwatuuka abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde ab'e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumuggya mu nsi ye Tobu; ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere, tulwanyise abaana ba Amoni.” Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Kiki ekibaleese gye ndi kaakano nga mutuuse mu buzibu?” Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Kyetuvudde tujja gyoli, ogende naffe tulwanyise abaana ba Amoni, era oliba mufuzi w'abantu bonna mu Gireyaadi.” Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti, “Bwe munanzizaayo ewaffe okulwanyisa abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwange ne mbawangula; ndiba mufuzi wammwe.” Abakadde be Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tukkiriza Mukama ye mujulirwa wakati waffe naawe.” Awo Yefusa n'alyoka agenda n'abakadde ab'e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulu waabwe abafuga; Yefusa n'agenda e Mizupa n'ategeeza Mukama ebigambo ebyo byonna. Awo Yefusa n'atuma ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni n'amubuuza nti, “Onvunaana ki? Lwaki ozze okulwanyisa ensi yange?” Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isiraeri bweyava mu Misiri yatwala ensi yange, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani, kale kaakano munzirize ensi yange mu mirembe.” Yefusa n'atuma nate ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni, n'abagamba nti, “Isiraeri tenyaganga nsi ya Mowaabu, newakubadde ensi y'abaana ba Amoni, Isiraeri bweyava e Misiri, yayita mu ddungu okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, naggukira e Kadesi; Awo Isiraeri n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti, ‘Nkwegayiridde, ka mpite mu nsi yo;’ naye kabaka wa Edomu n'atayinza kuwulira. Era n'atumira bw'atyo ne kabaka wa Mowaabu, naye n'atakkiriza, Isiraeri n'atuula mu Kadesi. Isiraeri n'alyoka akwata ekkubo ery'omu ddungu ne yeetooloola. Ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, n'asiisira emitala w'omugga Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu. Era Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli eyatuulanga e Kesuboni; Isiraeri n'amugamba nti, ‘Tukwegayiridde tukkirize tuyite mu nsi yo tugende mu kifo kyaffe.’ Naye Sikoni n'ateesiga Isiraeri kuyita mu nsi ye; n'akuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira mu Yakazi okulwana ne Isiraeri. Mukama, Katonda wa Isiraeri, n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri, ne babatta; Isiraeri n'alyoka atwala ensi yonna ey'Abamoli ne bagituulamu. Ne batwala ensi yonna ey'Abamoli, okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yabboki, era n'okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani. Kale kaakano Mukama Katonda wa Isiraeri, ye yagobamu Abamoli n'agiwa Isiraeri, ate kaakano ggwe oyagala kugyediza? Sigaza ekyo Katonda wo Kemosi ky'eyakuwa, naffe tugenda kukuuma ekyo Mukama Katonda waffe kyeyatuwa. Olowooza ggwe osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali awakanyeeko ne Isiraeri oba yali alwanyeeko nabo? Isiraeri yamala emyaka bisatu (300) mu Kesuboni n'ebyalo byakyo, mu Aloweri n'ebyalo byakyo, ne mu bibuga byonna ebiri ku mabbali g'omugga Alunoni; kale kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo? Nze sikwonoonangako nakatono, naye ggwe onsosokereza okulwana nange; Mukama, Omulamuzi, alamule leero wakati w'abaana ba Isiraeri n'abaana ba Amoni.” Naye kabaka w'abaana ba Amoni n'atawulira bigambo bya Yefusa bye yamutumira. Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'atuuka mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, gye yava n'agenda eri abaana ba Amoni. Yefusa ne yeeyama eri Mukama obweyamo n'agamba nti “Bwolimpa obuwanguzi eri abaana ba Amoni, ne nkomawo emirembe, omuntu yenna alisooka okufuluma mu nnyumba yange okunsisinkana, ndimuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.” Awo Yefusa n'agenda n'alwana n'abaana ba Amoni; Mukama n'abagabula mu mukono gwe. N'abakuba okuva ku Aloweri okutuuka ku miriraano gye Minnisi, bye bibuga abiri (20), n'okutuukira ddala ku Aberukeramimu, n'atta abantu bangi nnyo. Bwe batyo abaana ba Amoni bwe bawangulwa aba Isiraeri. Yefusa n'addayo e Mizupa mu makage, laba muwala we n'afuluma okumusisinkana ng'akuba ebitaasa era nga bwazina; era ye yali omwana we omu yekka; teyalina mwana wa bulenzi newakubadde ow'obuwala omulala. Awo olwatuuka Yefusa bwe yalaba muwalawe, n'ayuzaayuza engoye ze, n'agamba nti, “Zinsanze muwala wange, onnakuwazizza era onneeraliikiriza nnyo! kubanga nneyama obweyamo eri Mukama siyinza kubumenyawo.” Muwalawe n'amugamba nti, “Kitange, oba nga weeyama obweyamo eri Mukama, kale nkola ng'ekigambo ekyava mu kamwa ko bwe kyali; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.” N'agamba kitaawe nti, “Nkusaba onkoleere kino kyokka; mpaayo emyezi ebiri, ŋŋende ne bannange ku nsozi nkungubagire eyo olw'okufa nga simanyi musajja.” Kitaawe n'amugamba nti, “Genda.” N'amusiibula amale emyezi ebiri, ye ne banne nga bali mu nsozi nga akungubagira eyo olw'okufa nga tamanyi musajja. Emyezi ebiri bwe gyaggwaako, omuwala n'adda eri kitaawe. Kitaawe n'akola nga bwe yeeyama eri Mukama, omuwala n'afa nga tamanyi musajja. Eno ye yali entandikwa ye mpisa mu Isiraeri, abawala ba Isiraeri okugendanga buli mwaka ne bamala ennaku nnya nga bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi. Abasajja ba Efulayimu ne bategeka olutalo, ne bagenda e Zofani; ne bagamba Yefusa nti, “Lwaki wasomoka n'ogenda okulwana n'abaana ba Amoni, ffe n'ototuyita kugenda naawe? Tujja kukwokera mu nnyumba yo.” Yefusa n'abagamba nti, “Nze n'abantu bange twalina enkayana ey'amaanyi ennyo n'abaana ba Amoni netubayita mmwe naye ne mutajja kutuyamba. Awo bwe nnalaba nga temunnyambye, obulamu bwange ne mbuwaayo ne nsomoka ne ŋŋenda okulwana n'abaana ba Amoni. Mukama n'abagabula mu mukono gwange, kale kiki ekibaleese leero okulwana nange?” Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi; ne balwana n'Abaefulayimu, Abagireyaadi ne bawangula aba Efulayimu, kubanga aba Efulayimu bayogeranga nti, “Muli abaatooloka okuva ku Efulayimu, mmwe Abagireyaadi, wakati wa Efulayimu ne Manase.” Aba Gireyaadi ne beekwata ebifo awasomokerwa omugga Yoludaani, awo omuntu yenna avudde mu Efulayimu, bweyayagala nga okusomoka, Abagireyaadi ne bamubuuza nti, “Oli mu Efulayimu?” Bweyaddangamu nti, “Nedda;” ne balyoka bamugamba nti, “Kale yogera Shibbolesi;” n'ayogera nti, “Sibbolesi;” kubanga teyayinza kukyatula bulungi. Ne bamukwata ne bamuttira awasomokerwa Yoludaani. Mu biro ebyo Abaefulayimu mitwalo ena mu enkumi bbiri (42,000) be battibwa. Yefusa Omugireyaadi n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga (6) n'afa, ne bamuziika mu kibuga kye mu Gireyaadi. Awo Yefusa ng'amaze okufa Ibuzaani Omubesirekemu n'alamula Isiraeri. Yalina batabani be asatu (30), ne abawala be asatu (30). Yafumbiza bawalabe asatu (30) mu bika ebirala, n'awasiza batabani be abakazi asatu (30) okuva mu bika ebirala. Yalamulira Isiraeri emyaka musanvu (7). Ibuzaani n'afa, ne bamuziika mu Besirekemu. Ibuzaani bw'eyafa Eroni Omuzebbulooni n'alamulira Isiraeri emyaka kkumi (10). Eroni Omuzebbulooni n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni. Eroni bw'eyafa Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'alamula Isiraeri. Yalina batabani be ana (40) n'abazzukulu be asatu (30), abeebagalanga ku ndogoyi nsanvu (70). Yalamulira Isiraeri emyaka munaana (8). Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'afa, ne bamuziika mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu kitundu eky'Abamaleki eky'ensozi. Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama n'abawaayo okufugibwa Abafirisuuti okumala emyaka ana (40). Waaliwo omusajja ow'e Zola ow'omukika kya Daani, erinnya lye Manowa; eyalina mukazi we nga mugumba. Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti, “Laba nno, oli mugumba so tozaala; naye oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi. Kale nno weekuume, nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu, kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; taamwebwengako nviiri kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto; era yalitandika okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.” Awo omukazi n'alyoka ajja n'abuulira bba, ng'agamba nti, “Omusajja wa Katonda azze gye ndi, amaaso ge gabadde nga aga malayika wa Katonda, nga ga ntiisa nnyo. Simubuuzizza gy'avudde naye tambuulidde linnya lye; era aŋŋambye nti, ‘oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; okuva kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu ekitali kirongoofu; kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku lw'alifa.’ ” Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti, “Ayi Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma akomewo gyetuli omulundi ogwokubiri atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.” Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda najja eri omukazi omulundi ogwokubiri bwe yali nga atudde mu nnimiro; naye Manowa, bba, teyali naye. Omukazi n'agenda ng'adduka n'abuulira bba ng'agamba nti, “omusajja oli eyandabikira olulala era akomyewo gyendi.” Manowa n'asituka n'agoberera mukazi we, n'agenda eri omusajja n'amubuuza nti, “Ggwe musajja oli eyayogera ne mukazi wange?” N'amuddamu nti, “Ye nze.” Manowa n'amubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, omwana alikola omulimu ki? Era obulamu bwe buliba bwa ngeri ki?” Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti, “Byonna bye nnagamba mukaziwo abyekuumanga. Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatanga.” Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti, “Nkwegayiridde lindako tukuteekereteekere omwana gw'embuzi omale okulya.” Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti, “ Nnebwenalindako sijja kulya ku mmere yo, naye bw'oba oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira kukiwa Mukama.” Manowa yali tamanyi nga oyo yali malayika wa Mukama. Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti, “Tubuulire erinnya lyo, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukusseemu ekitiibwa.” Malayika wa Mukama n'agamba nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Olabye nga lya kitalo?” Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; malayika n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga balaba. Awo olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu bbanga, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogwo, Manowa ne mukazi nga balaba, ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka. Malayika wa Mukama teyaddayo nate kulabikira Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga ye malayika wa Mukama. Manowa n'agamba mukazi we nti, “Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda.” Naye mukazi we n'amugamba nti, “Singa Mukama abadde ayagala kututta, teyandikkirizza ekiweebwayo kyaffe ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta, so teyanditubuulidde bigambo ebyo byonna.” Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma erinnya Samusooni; omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa. Omwoyo gwa Mukama ne gusooka okumutwala mu Makanedani, ekiri wakati wa Zola ne Esutaoli. Awo Samusooni n'agenda e Timuna, era e Timuna n'alabayo omu ku bawala ab'Abafirisuuti. N'avaayo najja n'abuulira kitaawe ne nnyina nti, “N'alaba mu Timuna omuwala Omufirisuuti; njagala mu mumpasize.” Kitaawe ne nnyina ne bamubuuza nti, “Tewali mukazi n'omu mu bawala ba baganda bo, newakubadde mu bantu bange bonna, naawe kyova ogenda okuwasa omukazi mu Bafirisuuti abatali bakomole?” Samusooni n'agamba kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga nze ggwe nsimye.” Naye kitaawe ne nnyina tebaamanya nga ekyo kyava eri Mukama; kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Era mu biro ebyo Abafirisuuti be baali bafuga Isiraeri. Awo Samusooni n'agenda e Timuna, ne kitaawe ne nnyina, bwe batuuka mu nsuku z'emizabbibu ez'e Timuna, era, laba empologoma envubuka n'emulumba nga ewuluguma. Awo Omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agitaagulataagula nga bwe yanditaaguddetaagudde omwana gw'embuzi, so nga yali nga talina kintu mu ngalo ze; naye n'atabuulirako kitaawe newakubadde nnyina kw'ekyo ky'akoze. Samusooni n'agenda n'anyumya n'omukazi n'amusiima nnyo. Ebbanga bwe lyayitaawo n'addayo okumukima, n'akyama okulaba empologoma gye yatta, mu mutulumbi gwayo n'asangamu enjuki n'omubisi gwazo. Naagutoolako n'engalo ze, n'atambula nga alya, n'agenda eri kitaawe ne nnyina, nabo n'abawaako ne balya, kyokka teyababuulira nti yagujja mu mutulumbi gw'empologoma. Kitaawe n'agenda mu maka g'omuwala, Samusooni n'akolerayo embaga, kubanga abaawasanga bwe batyo bwe baakolanga. Awo olwatuuka bwe baamulaba ne baleeta bannaabwe asatu (30), okubeera naye. Samusooni n'abagamba nti, “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko; bwe mulikitegeera ne mukinzivuunulira ennaku omusanvu (7) ez'embaga nga tezinnaggwaako, ne ndyoka mbawa ebyambalo ebya bafuta asatu (30), n'emiteeko gy'engoye asatu (30), naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe ne mulyoka mumpa ebyambalo ebya bafuta asatu (30), n'emiteeko gy'engoye asatu (30).” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.” N'abagamba nti, “Mu mmuli mwavaamu emmere, Ne mu w'amaanyi mwavaamu obuwoomerevu.” Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko. Awo olwatuuka ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko, tuleme okukwokya omuliro ggwe n'ennyumba ya kitaawo, mwatuyita kutwavuwaza?” Mukazi wa Samusooni n'akaabira amaziga mu maaso ga Samusooni, n'amugamba nti, “Tonjagala onkyawa bukyayi, wakokkolera ekikokko abantu bange, naye nze n'otokimbuulirako.” N'amugamba nti, “Laba, sikibuuliranga kitange newakubadde mmange, ggwe nnaandikibuuliddeko?” N'akaabiranga mu maaso ge, okutuusa ennaku omusanvu (7) ez'embaga lwe zaggwaako; ku lunaku olw'omusanvu (7) n'amubuulira olw'okumwetayirira nnyo. Awo omukazi n'alyoka agenda n'abuulira abantu be amakulu g'ekikokko. Awo olwatuuka ku lunnaku olw'omusanvu, enjuba nga tennagwa, abasajja ab'omukibuga ne bagamba Samusooni nti, “Kiki ekisinga omubisi gw'enjuki obuwoomerevu? Era kiki ekisinga empologoma amaanyi?” N'agamba nti, “Singa temwalimisa nte yange, Temwandivvuunudde kikokko kyange.” Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agenda e Asukulooni, n'attayo abasajja asatu (30), n'abambulamu engoye zaabwe, n'aziwa bali abavvuunula ekikokko. Nasunguwalya nnyo n'addayo ewa kitaawe. Naye mukazi wa Samusooni ne bamuwa munne wa Samusooni, eyali mukwano ggwe ennyo. Awo olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, mu makungula g'eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we n'amutwalira omwana gw'embuzi; n'agamba kitaawe w'omukazi nti, “Naayingira eri mukazi wange mu nnyumba.” Naye kitaawe wa mukazi we n'atamuganya kuyingira. Kitaawe wa mukazi we n'amugamba nti, “Nnali ndowooza nti wamukyayira ddala kyennava muwa munno. Muganda we omuto siyamusinga bulungi? Nkwegayiridde twala oyo mu kifo kye.” Samusooni n'agamba nti, “Ku mulundi guno temunnenyanga Abafirisuuti bwe ndibakola akabi.” Awo Samusooni n'agenda n'akwata ebibe bisatu (300), n'abikwataganya emikira bibiri bibiri, n'ateeka ebitawuliro wakati w'emikira gyabyo. Awo bwe yamala okukoleeza ebitawuliro, n'ata ebibe ne bigenda mu nnimiro z'eŋŋaano ez'Abafirisuuti, ne byokya eŋŋaano ey'ebinywa ebikunguddwa neyo eyali mu nnimiro, era n'ensuku ez'emizeyituuni. Awo Abafirisuuti ne balyoka babuuza nti, “Akoze kino y'ani?” Ne babagamba nti, “Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yaddira mukazi wa Samusooni n'amuwa munne.” Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro. Samusooni n'abagamba nti, “Nga bwe mukoze bwe mutyo, sijja kuweera nga sinnabawalanako ggwanga.” N'abalumba, n'abattamu abantu bangi nnyo; n'alyoka aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu. Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bazinda ekibuga Leki. Abasajja ba Yuda ne babuuza nti, “Lwaki mutulumbye okutulwanyisa?” Abafirisuuti ne baddamu nti, “Tuzze okusiba Samusooni, twesasuzze by'eyatukola ffe.” Awo abasajja enkumi ssatu (3,000), aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti, “Tomanyi nga Abafirisuuti be batufuga? Lwaki watukola bw'otyo?” Samusooni n'agamba nti, “Naali nesasuzza ekyo nabo ky'ebankola.” Ne bamugamba nti, “Tuzze okukusiba tukuweeyo eri Abafirisuuti.” Samusooni n'abagamba nti Mundayirire nga mmwe bennyini temunzitta. Ne bamugamba nti, “Nedda, mazima tetuukutte, tujja kukusiba busibi tukuweeyo gyebali;” ne bamusibisa emiguwa ebiri emiggya ne bamujjayo mu jjinja. Awo bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne baleekaanira waggulu ne bamulumba; omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, naakutula emiguwa egyali gimusibye emikono, negiba ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro. N'alaba oluba lw'endogoyi olubisi, n'alulonda n'alussissa abasajja lukumi (1,000). Samusooni n'ayogera nti, “Oluba lw'endogoyi, entuumo n'entuumo, Oluba lw'endogoyi lwe nzisizza abasajja olukumi (1,000).” Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula wansi oluba lw'endogoyi; ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Lamasuleki. Awo Samusooni n'alumwa nnyo ennyonta, n'akoowoola Mukama nti, “Ompadde obuwanguzi buno obw'amaanyi. Naye ate kaakano nfe ennyonta mpambibwe abatali bakomole?” Katonda n'azibukula ekinnya ekyali mu Leki, ne muvaamu amazzi, awo Samusooni bwe yamala okunywa n'addamu amaanyi n'obulamu; Oluzzi olwo kyerwava luyitibwa Enkakkole, luli mu Leki ne kaakano. Awo Samusooni n'alamulira Isiraeri emyaka abiri (20) mu biseera by'Abafirisuuti. Samusooni n'agenda e Gaza, n'alabayo omukazi omwenzi, neyeegatta naye. Ne babuulira ab'e Gaza nti, “Samusooni atuuse wano.” Ne bamuzingiza, ne bamuteegera ku mulyango gw'ekibuga okukeesa obudde, ne basirika ekiro kyonna, ne boogera nti, “Katulinde obudde bukye tulyoke tumutte.” Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n'agolokoka mu ttumbi, n'akwata enzigi z'omuzigo gw'ekibuga, n'emyango gyombi, n'abisimbulira ddala byonna era n'ekisiba, n'abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso g'e Kebbulooni. Awo olwatuuka oluvannyuma Samusooni n'ayagala omukazi mu kiwonvu eky'e Soleki, erinnya lye Derira. Abakungu b'Abafirisuuti ne bagenda eri Derira ne bamugamba nti, “Musendesende akubuulire olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, okwo kwe tulisinziira tulyoke tumukwatte, tumusibe tumujeeze: buli omu ku ffe agenda kukuwa ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi (1,100).” Derira n'agamba Samusooni nti, “Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era kyebayinza okukusibya okukujeeza.” Samusooni n'amugamba nti, “Bwe balinsibya enkolokolo musanvu ezitakolangako eziwotose, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.” Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bamuleetera enkolokolo musanvu ezitakolangako eziwotose, n'amusibya ezo. Era omukazi yalina abateezi abaali mu kisenge ekirala. N'amugamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko!” Nagugumuka naakutula enkolokolo ng'omuguwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gwokeddwa omuliro. Amaanyi ge ne gatategeerekeka, Derira n'agamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye; kaakano nkwegayiridde, mbuulira kyebayinza okukusibya.” N'amugamba nti, “Bwe balinsibya obusibya emigwa emiggya egitakozesebwangako, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.” Awo Derira n'amusibya emiguwa emiggya, n'amugamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Era abateezi baali mu kisenge ekirala mu nnyumba. Samusooni naakutula emiguwa ku mikono gye ng'ewuzi. Derira n'agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulira era onnimba bulimbi; naye ddala mbuulira kyebayinza okukusibya.” N'amugamba nti, “Bw'onoolukira emivumbo egy'oku mutwe gwange omusanvu, ku muti okulukirwa engoye n'oginyweza n'olubambo, olwo ne ndyoka mbeera omunafu nga omusajja omulala yenna.” Derira bwe yalaba nga Samusooni yeebase, naddira emivumbo omusanvu egy'oku mutwe gwe n'agirukira ku muti ogulukirwako engoye, n'azisibira ddala n'olubambo; n'alyoka alekana n'amugamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Samusooni n'azuukuka mu tulo n'akwakulayo olubambo n'omuti okulukirwa engoye. Derira n'agamba Samusooni nti, “Oyinza otya okwogera nti onjagala ate nga omutima gwo teguli nange? Kubanga waakanduulira emirundi gino esatu, so nga tombuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.” Awo olwatuuka Derira n'amwetayiriranga buli lunaku n'ebigambo bye ng'amwegayirira; obulamu bwa Samusooni ne bwetaamirwa ddala. Awo Samusooni n'alyoka amubuulira byonna ebyali mu mutima gwe, n'amugamba nti, “Ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mange era siimwebwanga nviiri. Bwe mwebwako enviiri amaanyi gange ganvaako ne nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.” Derira bwe yamanya nga Samusooni amubuulidde byonna ebibadde mu mutima gwe, n'atumya abakungu b'Abafirisuuti ng'ayogera nti, “Mujje omulundi guno gwokka, kubanga ambuulidde byonna ebibadde mu mutima gwe.” Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bagenda gy'ali nga batutte n'effeeza mu ngalo zaabwe. N'amwebasa ku maviivi ge; n'ayita omusajja, n'amumwako emivumbo omusanvu egy'oku mutwe gwe; amaanyi ge negamuvaako, n'atanula okumujeeza. Derira naalekaana nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Samusooni n'azuukuka mu tulo twe n'alowooza nti anaafuluma ng'obw'edda abeetakkuluzeeko; n'atamanya nga Mukama yali amulese. Awo Abafirisuuti ne bamukwata, ne baggyamu amaaso ge; ne bamutwala e Gaza, ne bamusibya enjegere z'ebikomo; ne bamutwala mu kkomera ne bamuwa omulimu gw'okuseeranga ku lubengo. Naye enviiri ez'oku mutwe gwe nezitandika okumera. Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka ennene eri Dagoni katonda waabwe n'okusanyuka; kubanga baayogera nti, “Katonda waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe.” Abantu bwe baamulaba ne batendereza katonda waabwe nti, “Katonda waffe atuwadde okuwangula eyazikiriza ensi yaffe, era eyatuttako abantu abangi.” Awo olwatuuka emitima gyabwe bwe gyajjula essanyu, ne bagamba nti, “Muyite Samusooni atusanyusemu.” Awo ne bayita Samusooni okuva mukkomera n'abasanyusamu ng'ali mu maaso gaabwe nga bamutadde wakati w'empagi. Samusooni n'agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono nti, “Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde ennyumba, nzeesigameko.” Ennyumba yali ejjudde abasajja n'abakazi awamu n'abakungu b'Abafirisuuti nga bali omwo bonna nga ne waggulu ku nnyumba ng'eriyo abasajja n'abakazi nga enkumi ssatu (3,000), abaali batunuulira Samusooni ng'abasanyusamu. Awo Samusooni n'akoowoola Mukama ng'ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda, njijukira, nkwegayiridde, ompe amaanyi omulundi guno gwokka mpalane eggwanga ku Bafirisuuti bano olw'okunziggyamu amaaso gange gombi.” Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati ezaawanirira ennyumba, n'azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku emu, n'ogwa kkono nga guli ku ndala. Samusooni n'ayogera nti, “Kanfiire wamu n'Abafirisuuti.” N'akutama, n'asindika empagi n'amaanyi ge gonna; ennyumba n'egwa ku bakungu ne ku bantu bonna abaagirimu. Bwe batyo abaafa be yattira mu kufa kwe baali bangi okusinga be yatta nga mulamu. Awo baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe ne batwala omulambo gwe, ne baguziika wakati wa Zola ne Esutaoli ku kiggya kya Manowa kitaawe. Samusooni yalamulira Isiraeri emyaka abiri (20). Awo waaliwo omusajja ow'omu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, erinnya lye Mikka. N'agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi (1,100), bye baakutwalako n'okolima nga mpulira, nze n'abitwala era mbirina.” Nnyina n'ayogera nti, “Omwana wange aweebwe omukisa Mukama.” Omusajja n'addiza nnyina ebitundu biri ebya ffeeza olukumi mu ekikumi (1,100). Nnyina n'agamba nti, “Okuggya ekikolimo ku mwana wange, mponga eri Mukama ffeeza eno, ekolebwemu ekifaananyi ekyole ekibikiddwako ffeeza ensanuuse, kale kaakano ffeeza ngikuddiza.” Awo Mikka bwe yazza ebitundu bya ffeeza eri nnyina, nnyina n'atoolako ebitundu bibiri (200), n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'akola ekifaananyi ekyole, n'akibikkako ffeeza, ekifaananyi ekyo ne kiteekebwa mu nnyumba ya Mikka. Omusajja oyo Mikka yalina essabo lye, n'atunga ekkanzu ey'obwakabona, ne baterafi, n'ayawula omu ku batabani be n'amufuula kabona we. Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri nga buli muntu akola nga bw'alaba. Era waaliwo omuvubuka eyava mu Besirekemuyuda, ow'ekika kya Yuda, Omuleevi najja eyo. Omusajja oyo n'ava mu kibuga eky'e Besirekemuyuda n'anoonya ekifo wanaayinza okubeera, n'atambula n'atuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi awali ennyumba ya Mikka. Mikka n'amubuuza nti, “Ova wa?” N'amuddamu nti, “Ndi Muleevi ow'e Besirekemuyuda, era noonya ekifo wennyinza okubeera.” Mikka n'amugamba nti, “Beera nange obeere nga kitange era kabona wange. Nnaakuwanga ebitundu kkumi ebya ffeeza buli mwaka, n'eby'okwambala omuteeko gumu n'eby'okulya.” Awo Omuleevi n'akkiriza okubeera mu nnyumba y'omusajja oyo; era n'abeerera ddala ng'omu ku batabani be. Mikka n'ayawula omulenzi oyo Omuleevi okuba kabona we, n'abeerera ddala mu nnyumba ye. Mikka n'ayogera nti, “Kaakano nga bwe nnina Omuleevi nga ye kabona wange, mmanyi nga Mukama ajja ku nkolera ebirungi.” Mu biseera ebyo, tewaali kabaka mu Isiraeri; ne mu nnaku ezo ekika kya Daani bali beenoonyeza obutaka obw'okutuulamu; kubanga okutuusa mu kiseera ekyo, obusika bwabwe baali tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri. Awo abaana ba Ddaani ne berondamu abasajja bataano abazira okuva e Zola ne mu Esutaoli, ne babatuma bagende bakette ensi n'okugikebera. Awo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo. Bwe baali bali eyo mu nnyumba ya Mikka, ne bawulira eddoboozi ery'omuvubuka Omuleevi; ne bamuzza ku bbali ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki mu kifo kino? Era kiki ky'olina wano?” N'abaddamu nti, “Twategeragana ne Mikka ansasulenga empeera mbeere kabona we.” Ne bamugamba nti, “Buuza Katonda atutegeeze oba nga olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n'omukisa.” Kabona n'abagamba nti, “Mugende mirembe, olugendo lwammwe Mukama alukkiriza.” Abasajja abo abataano ne balyoka bagenda ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu bayo nga batudde mirembe okufaanana nga ab'e Sidoni, nga basirise nga tebalina ky'ebekengeera kyonna, nga tewali abatataganya era nga balina byonna bye beetaaga. Baali wala n'ab'e Sidoni ate nga tebalina bantu balala bonna bebakolagana nabo. Awo abasajja abataano ne baddayo eri baganda baabwe ab'e Zola ne Esutaoli, ne bababuuza nti, “Muleese mawulire ki?” Ne baddamu nti, “Musituke tugende tubalwanyise kubanga ensi tugirabye nga nnungi nnyo. Kale laba munaaberawo nga temulina kye mukoze? Temugayaala mwanguwe mugende mugiwambe. Bwe munatuukayo mujja kusanga abantu abatalina kyebekengeera, ensi ngazi era erimu buli kintu omuntu kyeyetaaga. Katonda amaze okugigabula mu mukono gwammwe.” Awo abasajja abalwanyi lukaaga (600), nga balina eby'okulwanyisa ab'omu kika kya Daani, ne bava e Zola ne Esutaoli, ne bambuka ne basiisira e Kiriyasuyalimu mu Yuda, ekifo ekyo kyebaava bakiyita Makanedani okutuusa ne leero; kiri mabega wa Kiriyasuyalimu. Ne bavaayo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ne bagenda ne batuuka ku nnyumba ya Mikka. Awo abasajja bali abataano (5) abaagenda okuketta ensi ey'e Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi mu nnyumba muno bwe mulimu ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi n'ekifaananyi ekyole n'ekisaanuuse? Kale nno kaakati mulowooze kye musaanira okukola.” Awo ne bayingira mu nnyumba ya Mikka, omuvubuka Omuleevi mwe yabeeranga, ne bamubuuza nga bw'ali. N'abasajja bali olukaaga (600), abalwanyi abeesiba eby'okulwanyisa ab'omu kika kya Ddaani baali bayimiridde ku mulyango ogwa wankaaki. N'abasajja bali abataano (5) abaagenda okuketta ne bagenda ne bayingira mu nnyumba ne baggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi, n'ekifaananyi ekisaanuuse, naye ye kabona yali ayimiridde ku mulyango ogwa wankaaki wamu n'abasajja olukaaga (600), abaalina eby'okulwanyisa. N'abasajja bali abataano (5) bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka okuggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi n'ekifaananyi ekisaanuuse, kabona kwe kubabuuza nti, “Mukola ki?” Awo ne baddamu nti, “Sirika, teeka engalo zo ku mumwa, ogende naffe obeere kabona waffe, tekisinga okuba kabona ow'ekika ky'abaana ba Isiraeri ekirondemu mu kifo ky'okuba kabona ow'ennyumba ey'omuntu omu?” Awo kabona n'asanyuka, n'atwala ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi n'ekifaananyi ekyole, n'agenda nabo. Awo ne bakyuka ne bagenda nga bakulembezzamu abaana abato n'ensolo n'ebintu. Bwe baali batambuddeko olugendo oluwanvu okuva ku nnyumba ya Mikka, Mikka ne baliraanwa be ne bakuŋŋaana ne babawondera ne batuuka ku baana ab'ekika kya Ddaani; ne babakoowoola. Ab'omu kika kya Ddaani ne bakyuka ne batunula emabega, ne bagamba Mikka nti, “Obadde otya okujja n'ekibiina ekinene bw'ekityo?” Mikka n'abaddamu nti, “Mututte bakatonda bange be nnakola ne kabona wange ne mugenda naye, kati nze nsigazza ki? Lwaki mumbuuza nti, Obadde otya?” Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja bano bakambwe baleme okukulumba ne bakutta ggwe n'ab'omu nnyumba yo.” Abaana ba Ddaani ne beetambulira; awo Mikka bwe yalaba nga bamusinza amaanyi n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye. Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise nga bali mu mirembe, ne babatta n'obwogi bw'ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro. Tewaaliwo bajja kubataasa, kubanga Layisi kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu, nga kyesudde nnyo Sidoni, ate ng'abaayo tewali bantu balala be bakolagana nabo. Ab'omu kika kya Daani ne bazimba buggya ekibuga, ne babeera omwo. Erinnya ly'ekibuga edda eryali Layisi, balikyusa ne bakituuma Ddaani mutabani wa Yakobo, jjajjaabwe. Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole, ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu era muzzukulu wa Musa ye, ne batabani be ne babeera bakabona b'ekika kya Daani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako. Awo ab'ekika kya Daani ne beesimbira ekifaananyi ekyole Mikka kye yakola, ennaku zonna ennyumba ya Katonda ng'ekyali mu Siiro. Awo olwatuuka mu nnaku ezo, bwe wali nga tewali kabaka mu Isiraeri, ne wabaawo Omuleevi eyabeeranga ewala mu nsi eya Efulayimu ey'ensozi, nnaggya omuwala mu Besirekemuyuda n'amuwasa. Mukazi we n'ayenda, nanyiiza bba, n'amunobako n'addayo mu nnyumba ya kitaawe mu Besirekemuyuda, n'amalayo emyezi ena. Bba n'asituka n'agenda okumuwooyawooya amukomyewo, nga ali n'omuddu we n'endogoyi bbiri (2). Awo omusajja n'atuuka ku nnyumba ya taata wa mukazi we, taata wa mukazi we bwe yamulaba, najja n'essanyu okumusisinkana. Mukoddomi we, taata w'omuwala, n'amukkiriza n'amalayo ennaku ssatu, nga balya nga banywa, nga basula eyo. Awo ku lunaku olwokuna ne bagolokoka enkya ku makya ne beetegeka okugenda. Naye taata w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti, “Mumale okulya ku mmere mulyoke mugende.” Awo ne batuula, ne balya ne banywa, bombi wamu, taata w'omuwala n'agamba omusajja nti, “Nkwegayiridde, kkiriza osulewo, omutima gwo gusanyuke.” Omusajja n'agolokoka okugenda; naye mukoddomi we n'amwegayirira, n'asulayo nate. N'agolokoka enkya mu makya ku lunaku olw'okutaano okugenda; taata w'omuwala n'ayogera nti, “Sanyusa omutima gwo, nkwegayiridde, mubeere wano, okutuusa obudde lwe bunaawungeera;” ne balya bombi. Omusajja bwe yagolokoka okugenda, ye n'omukazi we n'omuddu we, mukoddomi we, taata w'omuwala n'amugamba nti, “Laba, kaakano obudde bunaatera okuwungeera, mbeegayiridde musule; laba obudde bugenda buziba, beera wano, omutima gwo gusanyuke; enkya mukeere okutambula, oddeyo eka.” Naye omusajja n'atakkiriza kusula kiro kirala. Awo n'asituka n'atambula ng'ali ne mukazi we n'omuddu we n'endogoyi zaabwe ebbiri (2), eziriko amatandiiko, ne boolekera Yebusi, ye Yerusaalemi. Awo bwe batuuka e Yebusi obudde bwali buwungedde nnyo; omuddu n'agamba mukama we nti, “Nkwegayiridde tukyame tusule mu kibuga kino eky'Abayebusi.” Mukama we n'addamu nti, “Tetuukyame kusula mu kibuga kya munnaggwanga atali wa baana ba Isiraeri; naye tweyongereyo tugende e Gibea.” N'agamba omuddu we nti, “Jjangu tweyongereyo tusule Gibea oba mu Laama.” Awo ne batambula ne bagenda; obudde ne bubazibirira nga bali kumpi ne Gibea, ekya Benyamini. Awo ne bakyama basule mu Gibea, ne bayingira mu kibuga ne batuula mu kibangirizi; kubanga tewaali muntu abayingiza mu nnyumba ye okubasuza. Awo baali bakyali awo, omusajja omukadde n'ajja ng'ava ku mirimu gye mu nnimiro akawungeezi; omusajja oyo okusooka yali wa mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, naye kati nga abeera mu Gibea; kyokka abantu abalala ab'omu kifo ekyo baali ba kika kya Benyamini. Omusajja ono omukadde, bwe yalengera omuyise ng'ali mu kibangirizi eky'ekibuga kwe kugenda n'amubuuza nti, “Ova wa? Era ogenda wa?” N'amuddamu nti, “Tuva Besirekemuyuda tuddayo ewaffe mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, naye tewali muntu atuyingiza mu nnyumba ye okutusuza. Naye tulina essubi ery'endogoyi zaffe ne mmere n'omwenge ebyange n'eby'omukazi wange, n'eby'omuddu wange; tetuliiko kye twetaaga.” Omukadde n'addamu nti, “Emirembe gibe nammwe; temweraliikirira nja kubalabirira, naye temusula wano mu kibangirizi.” Awo n'amuyingiza mu nnyumba ye, n'endogoyi n'aziwa eby'okulya; ne banaaba ebigere byabwe, ne balya ne banywa. Awo bwe baali nga bakyasanyuka, abasajja ab'omu kibuga abagwenyufu ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, ne bakonkona ku luggi, ne bagamba nnyini nnyumba omukadde oli nti, “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyuma twegatte naye.” Omusajja nannyini nnyumba, n'afuluma n'abagamba nti, “Nedda, baganda bange, mbeegayiridde, temukola bubi obwenkanidde wano; kubanga omusajja ono mugenyi wange, temukola kya busirusiru kino. Naye kambawe muwala wange embeerera ne mukazi w'omusajja ono mubakole kyemwagala; naye omusajja ono temumukolako kya busirusiru kyonna ekiriŋŋaanga ekyo.” Naye abasajja ne batamuwuliriza, awo Omuleevi naddira mukazi we n'amuwaayo gyebali, ne bamusobyako okukeesa obudde, awo emmambya bwe yali esala ne bamuta. Awo obudde bwe bwali nga bukya, omukazi najja n'agwa ku luggi lw'ennyumba y'omusajja oli omukadde omwali bba, n'abeera awo okutuusa obudde lwe bwakya. Awo bba bwe yagolokoka ku makya n'aggulawo oluggi, n'afuluma okugenda, n'asanga mukazi we, ng'agudde mu maaso g'ennyumba, emikono gye nga gikunukkiriza omulyango. N'amugamba nti, “Situka tugende,” naye n'atamuddamu. Awo n'amusitula n'amuteeka ku ndogoyi ye n'agenda ewuwe. Awo bwe yatuuka mu nnyumba ye, n'addira akambe, omulambo gw'omukazi we n'agusalamu ebitundu kkumi na bibiri (12), buli kika kya Isiraeri n'akiwerezaako ekitundu. Awo bonna abaalaba ekyo ne bagamba nti, “Ekiri nga kino tekirabibwangako bukya baana ba Isiraeri bava mu misiri, mukirowooze, muteese, tulabe eky'okukola.” Awo abaana ba Isiraeri bonna ne balyoka bafuluma, ekibiina ne kikuŋŋaana ng'omuntu omu, okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba, wamu n'ensi y'e Gireyaadi, eri Mukama e Mizupa. Abakulembeze b'abantu bonna, ab'ebika byonna ebya Isiraeri, ne beeraga mu kkuŋŋaaniro ly'abantu ba Katonda, abasajja abalwanyisa ebitala abatambuza ebigere obusiriivu buna (400,000). Era ab'ekika kya Benyamini ne bawulira nga ebika bya Isiraeri ebirala bakuŋŋaanidde e Mizupa. Abaana ba Isiraeri ne babuuza Omuleevi nti, “Obubi buno bwakolebwa butya?” Awo Omuleevi bba w'omukazi gwe batta, n'addamu n'ayogera nti, “N'atuuka e Gibea, ekya Benyamini, nga ndi ne mukazi wange, okusulayo. Abasajja ab'e Gibea ne bangolokokerako, ne bazingiza ekiro ekyo enjuyi zonna; baali baagala okunzita, ne mukazi wange ne bamukwata ne bamusobyako n'afa. Ne ntwala omulambo gwa mukazi wange nnengusalaasalamu ebitundu, ne mbiweereza okubunya ensi yonna ey'obusika bwa Isiraeri; kubanga baakola eby'obugwenyufu mu Isiraeri. Kale mwenna abaana ba Isiraeri, muleete amagezi gammwe muteese tulabe eky'okukola.” Abantu bonna ne basituka ng'omuntu omu nga boogera nti, “Tewali n'omu ku ffe ajja kuddayo mu weema ye oba nju ye. Kino kyetunakola, tujja kukuba akalulu; tulyoke tugende tulwanyise Gibea; Ekimu eky'ekkumi ku basajja mu Isiraeri kijja kusakira eggye emmere, abalala bonna bagende babonereze Gibea ekya Benyamini, olw'ekikolwa kino eky'obugwenyufu, kye baakola mu Isiraeri.” Awo abasajja bonna ab'omu Isiraeri ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu okulumba ekibuga. Awo ebika bya Isiraeri ne batuma ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Benyamini; babuuze nti, “Bubi ki obwo bwe mwakola? Kale kaakano muweeyo abasajja abo abagwenyufu abali mu Gibea tubatte, tulyoke tuggyewo obubi mu Isiraeri.” Naye ab'ekika kya Benyamini nebagaana okuwulira ab'ebika bya Isiraeri abalala kye babagamba. Awo ab'ekika kya Benyamini ne bava mu bibuga ne bakuŋŋaanira e Gibea, okugenda okulwanyisa ebika ebirala ebya Isiraeri. Ku lunaku olwo ab'ekika kya Benyamini ne bakuŋŋaanya abalwanyisanga ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga (26,000), okuva mu bibuga ebirala okwongereza kw'abo olusanvu (700) abalondemu abaali mu Gibea. Mu bantu bano bonna mwalimu abasajja lusanvu (700) abalondemu ab'enkonokono, abaalwanyisanga envumulo nga tebasubwa. Ebika bya Isiraeri ebirala ne bakuŋŋaanya abasajja abazira abaalwanyisanga ebitala obusiriivu buna (400,000). Abaana ba Isiraeri ne basituka ne bagenda e Beseri ne babuuza Katonda, “Ani ku ffe anaasooka okugenda okulwanyisa Benyamini.” Mukama n'abagamba nti, “Yuda ye alisooka.” Abaana ba Isiraeri ne basituka enkya, ne basiisira okumpi ne Gibea. Abasajja ba Isiraeri ne bafuluma okulwana ne Benyamini; abasajja ba Isiraeri ne basimba ennyiriri okulwanira nabo e Gibea. Awo abalwanyi ba Benyamini ne bava mu Gibea ne balumba ne batta ku lunaku olwo abasajja abalwanyi ba Isiraeri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000). Awo eggye lya baana ba Isiraeri ne bataterebuka, ne baddamu ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali bazisimbidde ku lunaku olwasooka. Era abaana ba Isiraeri ne baakabira amaziga mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi. Ne bamubuuza nti, “Tugende nate okulwanyisa baganda baffe ab'ekika kya Benyamini.” Mukama n'addamu nti, “Mugende mulwane nabo.” Awo abaana ba Isiraeri ne basembera okulwana n'abaana ba Benyamini ku lunaku olwokubiri. Ab'ekika kya Benyamini ne bava mu Gibea okujja okulwana nabo olunaku olwokubiri; ne batta nate abasajja ba Isiraeri abalwanyisanga ebitala, abasajja omutwalo gumu mu kanaana (18,000). Eggye ly'abaana ba Isiraeri n'abantu bonna ne bambuka e Beseri ne bakaabira eyo amaziga ne basiiba ku lunaku olwo okutuuka akawungeezi; ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama. Abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama, ne ssanduuko ey'endagaano eya Katonda yali Beseri mu nnaku ezo, ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali muzzukulu wa Alooni ye yagirabiriranga; ne babuuza Mukama nti, “Tugende tulwanyise baganda baffe ab'ekika kya Benyamini omulundi ogwokusatu oba nedda?” Mukama n'addamu nti, “Mugende mulwane, kubanga enkya n'abagabula mu mikono ggyammwe.” Awo Isiraeri n'assaawo abateezi okuteega Gibea enjuyi zonna. Awo abaana ba Isiraeri ne bambuka okulwana n'ab'ekika kya Benyamini ku lunaku olwokusatu (3), ne basimba ennyiriri zaabwe nga boolekedde Gibea ng'olulala. Ab'ekika kya Benyamini ne bafuluma okulwanyisa Abaisiraeri ab'ebika ebirala, ne basendebwasendebwa okufuluma mu kibuga; ne battira abalwanyi aba Isiraeri nga asatu (30) ku luguudo olugenda e Beseri, n'olulala olugenda e Gibea, ne mu nnimiro. Ab'ekika kya Benyamini ne boogera nti, “Tubawangudde nga olulala.” Naye ab'ebika bya Isiraeri ebirala ne bagamba nti, “ Tudduke, tubasendesende okuva ku kibuga bagende mu nguudo.” Abasajja abalwanyi ab'ebika bya Isiraeri ebirala byonna, ne basituka ne bava mu bifo byabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe e Baalutamali; n'abateezi ba Isiraeri ne bafubutuka okuva mu kifo kyabwe e Maalegeba. Abasajja abalwanyi omutwalo gumu (10,000) abaalondebwa mu bika bya Isiraeri ebirala byonna ne balumba Gibea. Ne balwana nnyo. Naye ab'ekika kya Benyamini baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi. Mukama naawa ab'ebika ebirala ebya Isiraeri okuwangula ekika kya Benyamini, ne babattamu abalwanyisa ebitala emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi (25,100). Awo ab'ekika kya Benyamini ne bamanya nga bawanguddwa, Abaisiraeri nga bwe baawangulwa. Abasajja abalwanyi aba Isiraeri baasegulira Benyamini kubanga bali beesize abateezi be bali bateezezza e Gibea. Awo abateezi bano bayanguwa mangu nga bava ku njuuyi zonna okuyingira mu kibuga Gibea, ne batta abantu bonna abalimu n'obwogi bwe kitala. Abalwanyi ab'ebika ebirala eby'Abaisiraeri n'abateezi baabwe baali balagaanye akabonero kano nti abateezi bwe bananyoosa omukka omungi mu kibuga, nga abalwanyi ab'ebika ebirala ebya Isiraeri nga bakyuka. Olwo ab'ekika kya Benyamini baali bamaze okutta Abaisiraeri ng'asatu (30). Ne bagambagana nti, “Tubawangudde, nga bwe twakola mu kulwanagana okwasooka.” Naye olwo akabonero ne kalabika. Ekire ky'omukka ekiri ng'empagi ne kinyooka okuva mu kibuga okutuuka ku ggulu. Ab'ekika kya Benyamini bwe bakyuka okutunula emabega, ne balaba ekibuga kyonna nga kiggya. Awo abasajja ba Isiraeri ne bakyuka, abasajja ba Benyamini ne bawuniikirira, kubanga baalaba ng'akabi kabatuuseeko. Awo abalwanyi ab'ekika kya Benyamini ne bakyuka ne baddukira mu kkubo eridda mu ddungu; ne ggye lya ba Isiraeri ab'ebika ebirala ne babawondera, n'abateezi abava mu kibuga ne babazikiririza wakati awo. Aba Isiraeri ab'ebika ebirala ne bazingiza ab'ekika kya Benyamini enjuyi zonna, ne babattira ddala okutuuka e Gibea ku luuyi olw'ebuvanjuba. Mu kika kya Benyamini ne mufaamu abalwanyi abazira omutwalo gumu mu kanaana (18,000) Abaafikkawo ne baddukira mu kkubo ery'e ddungu okutuuka ku jjinja lya Limoni; eggye ly'ebika ebirala ebya Isiraeri ne libawondera ne babattamu abalwanyi enkumi ttaano (5,000), neriwondera nabo abaali baddukidde e Gidomu ne libattamu abalwanyi enkumi bbiri (2,000). Bwe batyo abalwanyi abaafa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), bonna abo nga basajja bazira. Naye abasajja abalwanyi abalala ab'omu kika kya Benyamini lukaaga (600) ne baddukira mu kkubo ery'e ddungu ne baatuka ku jjinja lya Limoni, ne beekweka eyo okumala emyezi ena (4). Abalwanyi ab'ebika ebirala ebya Isiraeri ne bakyukira ab'ekika kya Benyamini ne babatta bonna; abasajja, abakazi, abaana ne nsolo. Ne bookya ebibuga byabwe byonna mu kitundu ekyo. Abasajja ab'ebika ebirala ebya Isiraeri baali balayiridde e Mizupa nga boogera nti, “Tewabanga n'omu ku ffe awaayo muwalawe eri omu Benyamini yenna okumuwasa.” Abantu ne bagenda e Beseri mu maaso ga Mukama, ne babeera eyo okuva enkya okutuusa akawungeezi, ne bayimusa amaloboozi gabwe ne bakaaba nnyo amaziga. Ne boogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, kivudde ku ki ekika ekimu okusaanawo mu Isiraeri?” Awo olwatuuka enkya ku makya, abantu ne basituka ne bazimba eyo ekyoto, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. Abaana ba Isiraeri ne babuuza nti, “Baani mu bika byonna ebya Isiraeri ataagenda mu lukkuŋŋaana olwali e Mizupa?” Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo yenna ataligenda eri Mukama e Mizupa nga boogera nti, “Talirema kuttibwa.” Abaana ba Isiraeri ne baakwatibwa ekisa olwa Benyamini muganda waabwe ne boogera nti, “Waliwo ekika kimu leero ekyazikirizibwa mu Isiraeri. Tulibalabira tutya abakazi abo abasigaddewo, kubanga twalayira eri Mukama obutabawanga ku bawala baffe okubawasa?” Ne beebuuza nti, “Kika ki mu bika bya Isiraeri ekitaagenda mu lukuŋŋaana lwa Mukama olwali e Mizupa?” Ne bazuula nga mu Yabesugireyaadi temwava muntu eyaagenda mu lukkuŋŋaana lwa Mukama. Kubanga abantu bwe baabalibwa, tewaliiwo n'omu ku abo abaava e Yabesugireyaadi eyagenda mu lukuŋŋaana. Ekibiina ne kitumayo abasajja abazira omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000) ne babalagira bagende batte n'obwogi bw'ekitala abatuuze bonna, ng'otwaliddemu abakazi n'abaana abato. Na kino kye munaakola; munaazikiririza ddala buli musajja na buli mukazi eyali yeegasse n'omusajja. Ne bazuula mu batuuze ab'omu Yabesugireyaadi abawala embeerera bina (400), ne babatwala mu lusiisira e Siiro mu nsi eya Kanani. Awo ekibiina kyonna ne kitumira abaana ba Benyamini abaali mu jjinja lya Limoni obubaka obw'okukomya olutalo wabeewo emirembe. Mu biro ebyo, Ababenyamini ne bakomawo, aba Isiraeri ab'ebika ebirala ne babawa abawala be bajja e Yabesugireyaadi abattatibwa, naye ne batabamala bonna. Awo abantu ne banakuwala olw'Ababenyamini, olw'okubanga Mukama yali aggyewo obumu mu bika bya Isiraeri. Awo abakadde b'ekibiina ne beebuuza nti, “Abasajja abasigaddewo tunabafunira tutya abakazi, kubanga abakazi bonna ab'Abenyamini bazikirizibbwa?” Ne bagamba nti, “Kigwana okubaawo obusika eri abo abaawonawo mu ba Benyamini, ekika kireme okusaanawo mu Isiraeri. Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe okubawasa,” kubanga abaana ba Isiraeri baali balayidde nga boogera nti, “Akolimirwe oyo awa Benyamini omukazi okuwasa.” Ne bagamba nti, “Laba, waliwo embaga ya Mukama e Siiro, ekiri ku luuyi olw'obukiikakkono olw'e Beseri, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'oluguudo oluva e Beseri okwambuka e Sekemu, ne ku luuyi olw'obukiikaddyo olw'e Lebona.” Awo ne balagira abaana ba Benyamini nga babagamba nti, “Mugende muteegere mu nsuku ez'emizabbibu; mutunule, bwe munaalaba abawala ab'e Siiro nga bafuluma okuzina mu mizannyo gyaffe, olwo mufubutuke mu nsuku, buli muntu anyage mukazi ku bawala abo ab'e Siiro, mu batwale mu nsi yammwe ey'e Benyamini babeere bakazi bammwe. Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okuwaaba, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa kubanga tetwabanyagako mu lutalo okubafuula bakazi baffe, so nammwe temwababawa kubanga mwalibadde muzzizza omusango.’ ” Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi buli muntu omukazi ku bawala abo abaali bazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali; abo be baanyaga ne baddayo ku butaka bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo. Awo n'ebika ebirala eby'abaana ba Isiraeri ne baddayo buli muntu ku butaka bwe. Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri; buli muntu yakolanga nga bweyayagalanga. Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu Isiraeri, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'asengukira mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi. N'erinnya ly'omusajja oyo lyali Erimereki, n'erinnya lya mukazi we lyali Nawomi, n'amannya ga batabani be bombi gaali Maloni ne Kiriyoni, Abaefulaasi ab'e Besirekemuyuda. Ne batuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera eyo. Awo Erimereki bba Nawomi n'afa; ye n'asigalawo ne batabani be bombi. Ne bawasa ku bakazi Abamowaabu; erinnya ly'omu Olupa, n'erinnya ly'owokubiri Luusi, ne bamalayo emyaka nga kkumi (10). Awo Maloni ne Kiriyoni ne bafa bombi; Nawomi n'afiirwa bba, n'abaana be bombi. Awo Nawomi n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo nga ava mu nsi ya Mowaabu, kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yali ayambye abantu be, era nga abawadde ne mmere. Bw'atyo n'ava mu kifo mwe yali, ne baka baana be bombi, era ne batambula okuddayo mu nsi ya Yuda. Awo Nawomi n'agamba baka baana be bombi nti, “Muddeyo buli omu mu nnyumba ya nnyina, Mukama abakolere eby'ekisa nga mmwe bwe mwankolera nze n'abo abaafa. Mukama abawe omukisa mufumbirwe nate.” N'alyoka abanywegera ne bayimusa amaloboozi gabwe ne bakaaba nnyo amaziga. Ne bamugamba nti, “Nedda; naye tujja kugenda naawe eri abantu bo.” Nawomi n'abagamba nti, “Nedda, baana bange muddeyo, kiki ekibaagaza okugenda nange? Nkyasobola okuzaala abaana balyoke babeere ba bbammwe? Mukyuke, baana bange, mweddireyo, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyasobola kuba na musajja. Ne bwe nnandibadde n'omusajja ekiro kino ne nzaala abaana ab'obulenzi; mwandibalindiridde okukula balyoke babawase? Mwandiganidde ki okufumbirwa abasajja abalala? Nedda baana bange, nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga nze Mukama yambonereza.” Awo ne bayimusa nnyo amaloboozi gabwe, ne bakaaba nnyo amaziga nate. Olupa n'anywegera nnyazaala we n'amusiibula n'agenda. Naye ye Luusi n'amwesibako. Nawomi n'amugamba nti, “Laba muggya wo azzeeyo eri abantu be n'eri katonda we, naawe ddayo ogoberere muggya wo.” Awo Luusi n'ayogera nti, “Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera; kubanga gy'onoogendanga, gye nnaagendanga nze, era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze, abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange; gy'olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinziika. Mukama ankole bw'atyo era n'okusingawo, oba ng'ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.” Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n'asirika. Awo ne batambula bombi okutuuka e Besirekemu. Awo bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe. Awo ne beebuuzaganya nti, “Ddala ono ye Nawomi?” N'abagamba nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Omuyinza w'ebintu byonna yandabya nnyo ennaku. Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewaffe nga sirina kantu. Lwaki mumpita Nawomi nga ate Mukama Omuyinza w'ebintu byonna yandabya nnyo ennaku?” Bwe batyo Nawomi ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, ne bava e Mowaabu ne batuuka e Besirekemu, nga bakatandika okukungula sayiri. Era Nawomi yalina muganda wa bba, omusajja ow'amaanyi omugagga, ow'omu nnyumba ya Erimereki; n'erinnya lye Bowaazi. Awo Luusi Omumowaabu n'agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nnonde ku birimba bya sayiri nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa.” N'amugamba nti, “Genda, mwana wange.” N'agenda, n'ajja n'alonda mu nnimiro abakunguzi we bayise; era olwatuuka n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi, eyali ow'omu kika kya Erimereki. Era, laba, Bowaazi n'ava e Besirekemu n'agamba abakunguzi nti, “Mukama abeere nammwe.” Ne bamuddamu nti, “Mukama akuwe omukisa.” Awo Bowaazi n'agamba omuddu we eyali akunguza abakunguzi nti, “Omuwala ono w'ani?” Omuddu eyali akunguza abakunguzi n'addamu n'ayogera nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyakomawo ne Nawomi okuva mu nsi ya Mowaabu. Atugambye nti, ‘Mbeegayiridde, nnonde, era nkuŋŋaanye abakunguzi we bayise mu binywa;’ awo n'ajja, era asiibye wano obw'enkya okutuusa kaakano, wabula ng'ayingiddeko mu nnyumba katono.” Awo Bowaazi n'alyoka agamba Luusi nti, “Wulira, mwana wange togendanga kulonda mu nnimiro endala, so tovanga wano, naye obeeranga wano kumpi n'abawala bange. Amaaso go gabe ku nnimiro, gye banaakungulanga, naawe obagobererenga. Sikuutidde balenzi obutakukomangako? Era ennyonta bw'eneekulumanga, ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku ago abalenzi ge basenye.” Awo Luusi n'avuunama amaaso ge, n'akutama, n'amugamba nti, “Kiki ekindabizza ekisa mu maaso go, ggwe okunnekkaanya nze kubanga ndi munnaggwanga?” Bowaazi n'addamu n'amugamba nti, “Bambuulirira ddala byonna bye waakola nnyazaala wo balo kasooka afa, era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko. Mukama akusasule olw'emirimu gyo gyewakola. Mukama Katonda wa Isiraeri gwe weeyuna okukuuma akuwe empeera enzijjuvu.” Luusi n'addamu nti, “Ondaze ekisa Mukama wange; era onsanyusizza kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.” Awo ekiseera eky'okulya bwe kyatuuka, Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Jjangu olye ku mmere okoze ne mu mwenge omukaatuufu.” Luusi n'atuula wamu n'abakunguzi, ne bamuwa sayiri ensiike, n'alya n'akkuta n'alemwa. Awo Luusi bwe yali azzeeyo okulonda ebirimba, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti, “Mumulekenga n'alonda ne mu binywa so temumugananga. Era mumutoolereko ne mu miganda, mugireke, alonde, so temumuwuunako.” Awo n'alonda mu nnimiro okuzibya obudde, n'awuula gye yali alonze, newera nga efa namba eya sayiri. N'agyetikka, n'ayingira mu kibuga; n'alaga nnyazaalawe gyalonze, era n'amuwa ne mmere eyasigalawo ng'amazze okukkuta. Awo nnyazaala we n'amubuuza nti, “Olonze wa leero era okoze wa emirimu? Aweebwe omukisa oyo akusizaako omwoyo.” Luusi n'ategeeza nnyazaala we nti, “Leero nkoze mu nnimiro y'omusajja ayitibwa Bowaazi.” Nawomi n'agamba muka mwana we nti, “Mukama awe omusajja oyo omukisa. Mukama atuukirize by'asuubiza abalamu n'abafu. Omusajja oyo muganda waffe ddala, y'omu ku banunuzi baffe.” Luusi Omumowaabu n'agamba nti, “N'ekirala, aŋŋambye nti, ‘nnondenga Sayiri n'abakozi be, okutuusa amakungula okuggwaako.’ ” Awo Nawomi n'agamba Luusi muka mwana we nti, “Kirungi, mwana wange, obeerenge wamu n'abazaana be, balemenga okukusiŋŋaana mu nnimiro endala yonna.” Awo Luusi n'abeeranga kumpi n'abazaana ba Bowaazi okulondanga okutuusa bwe baamala amakungula ga sayiri n'amakungula g'eŋŋaano; n'eyeyongera okubeera ne nnyazaala we. Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n'amugamba nti, “Mwana wange sisaana kukunoonyeza amaka owummule, obe bulungi? Kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro. Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, ogende mu gguuliro; naye teweraga gyali okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa. Awo olunaatuuka bw'anaagalamira n'eyeebaka, wekkaanye ekifo wagalamide, naawe onoyingira n'obikkula ku bigere bye, n'ogalamira awo; naye anaakubuulira bw'onookola.” Luusi n'amuddamu nti, “Byonna by'oyogedde naabikola.” N'agenda mu gguuliro, n'akola byonna nga nnyazaala we bweyamulagira. Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano n'agalamira yeebake. Awo Luusi najja ng'asooba n'abikkula ku bigere bya Bowaazi naye n'agalamira awo. Awo olwatuuka mu ttumbi Bowaazi bweyawawamuka mu ttulo neyeekyusa, naatya bweyategeera nga omukazi agalamidde awali ebigere bye. N'abuuza nti, “Ggwe ani?” Omukazi n'addamu nti, “Nze Luusi, omuzaana wo, kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga gwe mununuzi wange.” Bowaazi n'amugamba nti, “Mukama akuwe omukisa mwana wange, kubanga ku nkomerero olaze obwesigwa bungi mu kika kyaffe, okusinga obwo bwe walaga nnyazaalawo olubereberye; kubanga togoberedde balenzi balala oba baavu oba bagagga. Kale kaakano mwana wange totya; nja kukukolera byonna by'onsabye, kubanga abantu bonna mu kibuga bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza. Kya mazima ndi mununuzi wo, naye waliwo ow'oluganda omulala ansinga okuba ow'okumpi. Beera wano ekiro kino, bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ow'oluganda anaakukolera emirimu gy'oluganda; naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, nze ndigikukolera, nga Mukama bw'ali omulamu, weebake obudde bukye.” Luusi ne yeebaka okumpi n'ebigere bye okukeesa obudde. N'asituka nga obudde tebunnalaba bulungi omuntu okwekkaanya munne kubanga Bowaazi yayogera nti, “Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.” Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Ddira omunagiro gwo ogwalirire wansi.” Bowaazi naddira ebigero mukaaga (6) ebya sayiri n'abiyiwaako, n'abimutikka n'amusiibula addeyo mu kibuga. Bwe yatuuka eka, nnyazaala we n'amubuuza nti, “Bigenze bitya, mwana wange?” Luusi n'amubuulira byonna, Bowaazi by'amukoledde. N'amugamba nti, “Ebigero bino omukaaga (6) ebya sayiri yabimpadde n'aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo nga tolina kantu.’ ” Nawomi n'amugamba nti, “Tuula osirike mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo ebyo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamala okutereeza ensonga.” Awo Bowaazi n'agenda awali omulyango gw'ekibuga awakuŋŋaanirwa n'atuula awo; laba muganda wa Erimereki Bowaazi gwe yayogerako nga yamusinga okuba ow'okumpi n'ayitawo; Bowaazi n'amugamba nti, “Owange, muganda wange! kyama otuule wano.” N'akyama n'atuula. Era Bowaazi n'ayita abakadde b'ekibuga kkumi (10), n'abagamba nti, “Mutuule wano.” Ne batuula. N'agamba muganda w'omukazi nti, “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki. Kale ndowoozeza nga nteekwa okukikutegeezako nti oba oyagala, kigulire mu maaso ga bano abatudde wano ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Naye bw'oyagala okukinunula, kinunule, naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye; kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira.” N'ayogera nti, “Ndikinunula.” Bowaazi n'agamba nti, “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Luusi, nnamwandu Omumowaabu, okuzaawo obusika bwa bba eyafa.” Ow'oluganda ow'okumpi n'ayogera nti, “Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze, ggwe weetwalire okununula kwange okwo, kubanga nze sijja kukinunula.” Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne, n'ekyo kyabanga bujulirwa mu Isiraeri. Awo ow'oluganda, olw'okumpi n'agamba Bowaazi nti, “ Kyegulire.” N'anaanula engatto ye. Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti, “Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi. Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuzaawo erinnya lya bba eyafa n'obusika bwe bireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye; mmwe muli bajulirwa leero.” Awo abantu bonna n'abakadde b'ekibuga awakuŋŋaanirwa ne bagamba nti, “Ffe bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri; naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu; n'ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Pereezi, Tamali gwe yazaalira Yuda, olw'ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuvubuka.” Awo Bowaazi n'atwala Luusi okuba mukaziwe. Mukama n'awa Luusi omukisa n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi. Abakazi ne bagamba Nawomi nti, “Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri. Mukaamwana wo akwagala, era akukoledde ebirungi ebingi okusinga ebyo abaana omusanvu (7) ab'obulenzi bye bandikukoledde, kaakano akuzaalidde omuzzukulu ow'obulenzi, alikuzzaamu obulamu, n'okukulabirira mu bukadde bwo.” Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amuwambaatira mu kifuba kye, n'aba omulezi we. Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi; oyo ye kitaawe wa Yese azaala Dawudi. Era kuno kwe kuzaala kwa Pereezi: Pereezi yazaala Kezulooni; Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumooni; Salumooni n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi; Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi. Awo waaliwo omusajja ow'e Lamasaimuzofimu, eky'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriku, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufu, Omwefulayimu. Erukaana yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina; era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana. Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'agenda e Siiro okusinza n'okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo. Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerangayo ssaddaaka, n'awa Penina mukazi we omugabo gumu, ne batabani be ne bawala be buli omu omugabo gumu gumu; naye olw'okuba Kaana yamwagala nnyo yamuwanga emigabo ebiri (2), naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe. Naye Penina muggya we n'amusunguwazanga nnyo n'okumweraliikirizanga, olw'okubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe. Bwe kityo bwe kyabanga buli mwaka. Bwe bagendanga mu nnyumba ya Mukama, Penina yasunguwazanga Kaana. Kaana kyeyavanga akaaba amaziga, n'alemwanga n'okulya. Awo Erukaana bba n'amubuuza nti, “Kaana, okaabira ki? Kiki ekikugaana okulya? N'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? Nze sisinga baana kkumi (10) gy'oli obulungi?” Bwe baamala okulya n'okunywa e Siiro, Kaana n'asituka. Mu kiseera ekyo, Eri kabona yali atudde ku ntebe okumpi n'omulyango gwa Yeekaalu ya Mukama. Kaana omwoyo gwe gwali gumuluma nnyo, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga. Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti, “Ayi Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo gyendabye, n'onjijukira n'otonerabira, naye n'ompa omwana ow'obulenzi, nange ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so ne nviiri ze tezimwebwengako.” Awo bwe yeeyongera okusaba mu maaso ga Mukama, Eri ne yekkaanya emimwa gye. Kaana yasabira mu mutima gwe; emimwa gye, gye gyenyenya naye ebigambo bye tebyawulikika; Eri kyeyava alowooza nti atamidde. Eri n'amubuuza nti, “Olituusa wa okutamiiranga? Weggyeeko ettamiiro.” Kaana n'addamu n'ayogera nti, “Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina omwoyo ogunakuwadde; sinywedde mwenge newakubadde ekitamiiza, naye mbadde nyanjulira Mukama enaku eri ku mutima gwange. Tolowooza nti ndi mukazi ataliimu nsa, naye mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nsizide okwogera okutuusa kaakano.” Awo Eri n'addamu Kaana nti, “Genda mirembe, era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by'omusabye.” Kaana n'amuddamu nti, “Weebale kunjagaliza mukisa nze omuzaana wo.” Awo Kaana n'addayo n'alya n'ataddayo kunakuwala nate. Erukaana n'ab'omu nnyumba ye ne bazuukuka enkya ku makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne bayingira mu nnyumba yaabwe mu Laama. Erukaana ne yegatta ne mukazi we Kaana; Mukama n'amujjukira. Awo olwatuuka ebiro bwe byatuuka Kaana n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; n'amutuuma Samwiri, eritegeeza nti, “Nnamusaba eri Mukama.” Awo omusajja Erukaana n'ab'omunnyumba ye bonna ne bagenda nate okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'okutuukiriza obweyamo bwe. Naye Kaana ye n'atagenda kubanga yagamba nti, “Sijja kugendayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.” Erukaana bba n'amugamba nti, “Kola nga bw'oyagala; beera wano okutuusa lw'olimala okuggya omwana ku mabeere era Mukama atuukirize byeweyama.” Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere. Awo bwe yamuggya ku mabeere, n'amutwala ng'alina ente ssatu, ne efa emu n'ensawo ey'eddiba ejjudde omwenge, n'amutuusa mu nnyumba ya Mukama mu Siiro; naye omwana yali akyali muto. Ne batta ente ne baleetera Eri omwana. N'amugamba nti, “Ayi mukama wange, nga bw'oli omulamu, nze mukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama. Omwana ono gwe nnasaba; era Mukama yampa ebyo bye nnamusaba; nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu.” Kaana n'asinziza eyo Mukama. Awo Kaana n'asaba Mukama ng'ayogera nti, “Omutima gwange gujaguliza Mukama, N'amaanyi gange gali mu Mukama: Nsekerera abalabe bange; Kubanga nsanyukira obulokozi bwo.” Tewali mutuukirivu nga Mukama; Tewali mulala amufaanana; So tewali lwazi oluliŋŋaanga Katonda waffe. Mulekere awo okwenyumiriza; Mukome okwogeza amalala: Kubanga Mukama ye Katonda, ow'okumanya Era alamula byonna abantu bye bakola. Emitego egy'abazira gimenyese. Naye abanafu bafunye amaanyi. Abakkutanga kaakati bapakasizza okufuna emmere; N'abo abaalumwanga enjala bakkusse: Weewaawo, omugumba azadde musanvu; N'oyo alina abaana abangi ayongobera. Mukama atta ate n'alamya: Aserengesa emagombe ate n'abajjayo. Mukama ayavuwaza ate n'agaggawaza: Atoowaza ate n'agulumiza. Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, Asitula abeetaaga okubaggya mu ntuumo ye bisasiro; Okubatuuza awamu n'abalangira, Basikire entebe ey'ekitiibwa: Kubanga empagi z'ensi za Mukama, Era yateeka ebintu byonna okwo. Aluŋŋamya okutambula kw'abatukuvu be, Naye ababi babulira mu kizikiza; Kubanga omuntu tawangula lwa maanyi ge. Abawakana ne Mukama balimenyekamenyeka; Alibabwatukira ng'ayima mu ggulu: Mukama alisala omusango gw'enkomerero z'ensi; Era aliwa kabaka we amaanyi, N'agulumiza oyo gwe yafukako amafuta. Awo Erukaana n'addayo ewuwe e Lama. Omwana n'asigala ng'aweereza Mukama nga alabirirwa Eri. Awo batabani ba Eri baali baana ba Beriali; tebaamanya Mukama. Empisa bakabona gye baayisanga eri abantu yali bw'eti; omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, awo omuddu wa kabona n'ajja, nga bakyafumba ennyama, ng'alina ekkato ery'amannyo asatu (3) mu ngalo ze; n'akisoya mu nsaka oba mu bbinika oba mu ntamu oba musufuliya; byonna ekkato bye lyaleetanga nga kabona abitwala. Bwe batyo bwe baayisanga buli mu Isiraeri eyaagendanga e Siiro okuwaayo ssaddaaka. Bwe babanga tebannaba kwokya masavu, ng'omuddu wa kabona ajja ng'agamba omusajja oyo awaayo ssaddaaka nti, “Mpa ennyama ey'okwokera kabona kubanga tayagala omuwe ennyama enfumbe wabula embisi.” Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Kabasooke bookye amasavu, olyoke otwale ennyama gy'oyagala.” Awo ng'omuweereza amuddamu nti, “Nedda olina okugimpa kaakano, bw'ogaana nja kugitwala lwa mpaka.” Ekibi ky'abalenzi abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga abantu baatamwa okuwaayo ekiweebwayo eri Mukama. Naye Samwiri n'aweererezanga mu maaso ga Mukama, nga mwana muto, ng'ayambadde ekkanzu eya bafuta. Era buli mwaka nnyina yamutungiranga akakanzu n'akamuleeteranga bwe yabanga agenda ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. Eri n'asabira Erukaana ne mukazi we omukisa ng'ayogera nti, “Mukama akuwe ezzadde mu mukazi ono olw'ekyo kye yawa Mukama.” Awo ne baddayo eka ewaabwe. Awo Mukama nawa Kaana omukisa n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Naye omwana Samwiri n'akulira mu maaso ga Mukama. Awo Eri yali akaddiye nnyo; n'awuliranga byonna batabani be bye baakolanga Abaisiraeri bonna era nga ne bwe beebakanga n'abakazi abaaweererezanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. N'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo? Kubanga abantu bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi. Nedda, baana bange; kubanga bye mpulira si birungi n'akatono: mwonoonyeseza abantu ba Mukama. Omuntu bw'asobya ku munne, Katonda alimusalira omusango, naye omuntu bw'asobya ku Mukama, ani alimwegayiririra?” Naye ne batawulira ddoboozi lya kitaabwe, kubanga Mukama asazzewo okubatta. Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n'aba muganzi eri Katonda n'eri abantu. Awo omusajja wa Katonda najja eri Eri, n'amugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Neeraga eri ennyumba ya kitaawo bwe baali nga baddu ba Falaawo e Misiri? Era n'amuggya mu bika byonna ebya Isiraeri ne mmulonda okuba kabona wange, okuweerezanga ku kyoto kyange, okwoterezanga obubaane, n'okwambalanga ekkanzu mu maaso gange era n'empa ennyumba ya kitaawo omugabo ku byonna ebiweebwayo ebyokebwa aba Isiraeri bye baleeta. Lwaki temussamu kitiibwa ssaddaaka n'ebiweebwayo gye ndi bye nnalagira mu nnyumba yange, naye n'ossaamu ekitiibwa batabani bo okusinga nze, naye ne mugejjera ku biweebwayo byange ebisinga obulungi kw'ebyo byonna Isiraeri abantu bange bye bawaayo?’ Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava agamba nti, ‘Weewaawo n'ayogera nti ekika kye n'ekika kya kitaawo banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna,’ naye kaakano Mukama agamba nti,‘Ekyo nkiggyewo, abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma tebaabengamu ka buntu.’ Laba ennaku zijja, lwe ndizikiriza abantu mu nnyumba ya kitaawo ne wataba akaddiwa mu nnyumba yo. Olitunuulira n'obuggya ebirungi by'endikolera Isiraeri naye tewaliba akaddiwa mu nnyumba yo ennaku zonna. Naye omusajja wo gwe ssiizikirizanga n'asigala nga akyaweereza ku kyoto kyange anaabeeranga wa kukaabya maziga n'akukunakuwaza omwoyo gwo; n'ezzadde lyonna ery'ennyumba yo banaafanga kye bajje bavubuke. Era kano ke kaliba akabonero kw'olitegeerera nga byonna bye ŋŋambye birituukirira, batabani bo bombi, Kofuni ne Finekaasi; bombi balifa ku lunaku lumu. Nange ndyerondera kabona omwesigwa anaakolanga ebyo bye njagala era ebinsanyusa; ndimuzimbira ennyumba ey'enkalakkalira ennaku zonna era anaaweerezanga ennaku zonna mu maaso g'oyo gwe ndifukako amafuta. Awo olulituuka, buli alisigala mu nnyumba yo aligenda n'amufukaamirira n'amusaba ekitundu eky'effeeza n'omugaati nga ayogera nti, ‘Nkwegayiridde mpa obumu ku buweereza bwa bakabona nfune eky'okulya.’ ” Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. Ekigambo kya Mukama kyali kya bbula mu nnaku ezo; era tewaalingawo kwolesebwa kwa lwatu. Awo olwatuuka mu biro ebyo, amaaso ga Eri gaali gatandiise okuyimbaala, nga takyayinza kulaba, era yali nga agalamidde mu kisenge kye; n'ettabaaza ya Katonda yali nga tennazikira, nga ne Samwiri agalamidde okwebaka mu Yeekaalu ya Mukama omuli essanduuko ya Katonda; awo Mukama n'ayita, “Samwiri! Samwiri!” N'ayitaba nti “Nze nzuuno.” Samwiri n'ayanguwa n'agenda eri Eri n'ayogera nti, “Nzuuno kubanga ompise.” Eri n'addamu nti, “Sinakuyita, ddayo weebake.” N'agenda, n'eyeebaka. Mukama n'amuyita nate omulundi ogwokubiri nti, “Samwiri.” Samwiri n'agolokoka n'agenda eri Eri n'amugamba nti “Nzuuno kubanga ompise.” Eri n'addamu nti, “Sinakuyita ddayo weebake.” Era Samwiri yali tannamanya Mukama, so n'ekigambo kya Mukama kyali tekinnamubikkulirwa. Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogwokusatu, Samwiri n'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti “Nze nzuuno kubanga ompise.” Awo Eri n'ategeera nti Mukama ye yali ayita omwana. Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake.” Awo olunaatuuka bw'anaaba ng'akuyise onooyanukula nti, “Yogera Mukama wange, kubanga omuddu wo awulira.” Awo Samwiri n'agenda neyeebaka mu kifo kye. Awo Mukama n'ajja n'ayita ng'olulala nti, “Samwiri, Samwiri.” Awo Samwiri n'addamu nti, “Yogera kubanga omuddu wo awulira.” Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Laba ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryanaamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira. Ku lunaku olwo ndituukiriza ku Eri byonna bye nnaakoogera ku nnyumba ye, okuva ku lubereberye okutuusa ku nkomerero. Ndisalira ennyumba ye omusango ogw'olubeerera olw'ekibi kye yamanya batabani be kye bayonoona ne beeretako ekikolimo naye n'atabaziyiza. Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu bw'ennyumba ye tebugenda kugibwawo na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo ennaku zonna.” Samwiri neyeebaka okutuusa obudde bwe bwakya, n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama naye naatya okubuulira Eri bye yali ayolesebwa. Awo Eri n'ayita Samwiri n'ayogera nti, “Samwiri, mwana wange.” Samwiri n'addamu nti, “Nze nzuuno.” Eri n'amubuuza nti, “Mukama y'akugambye ki? Nkwegayiridde mbuulira tonkisa, Katonda akubonereze n'obukambwe bw'onoonkisa ekigambo kyonna ku ebyo bye yakugambye.” Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. Eri n'addamu nti, “Ye Mukama akole nga bw'asiima.” Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, Mukama n'ataganya kigambo kye na kimu kugwa butaka. Abaisiraeri bonna okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bamanya nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama. Awo Mukama n'ayongera nate okulabikira Samwiri mu Siiro, kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro ng'ayita mu kigambo kya Mukama. Ekigambo kya Samwiri ne kijja eri Isiraeri yenna. Awo Abaisiraeri ne basituka okulwana n'Abafirisuuti ne basiisira okumpi ne Ebenezeri naye Abafirisuuti ne basiisira mu Afeki. Abafirisuuti ne balumba Abaisiraeri, bwe basisinkana Abafirisuuti ne bakuba Abaisiraeri ne babattamu abasajja ng'enkumi nnya (4,000). Awo abantu bwe baddayo mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne beebuuza nti, “Lwaki leero Mukama akkirizza Abafirisuuti okutuwangula? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama tugiggye e Siiro tugireete wano etulokole mu mikono gy'abalabe baffe.” Awo abantu ne batuma e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey'endagaano eya Mukama ow'eggye, atuula mu bakerubi; ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi baali eyo awali essanduuko ey'endagaano ya Katonda. Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n'ewuumira ddala. Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano mu lusiisira lw'Abaebbulaniya ne bagamba nti, “Oluyoogaano olwo lutegeeza ki?” Nebategeera nti essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira. Awo Abafirisuuti ne batya ne bagamba nti, “Katonda atuuse mu lusiisira lwabwe.” Ne bagamba nti, “‘Zitusanze! kubanga ekyo ekigambo ekifaanana bwe kityo tekibangawo.’” “ ‘Zitusanze! ani anaatulokola mu mukono ogw'abakatonda abo ab'amaanyi abaabonyaabonya Abamisiri mu ddungu n'ebibonyoobonyo ebya buli ngeri.’” Awo Abafirisuuti ne bagambagana nti, “Muddemu amaanyi, mulwane masajja muleme okuba abaddu b'Abaebbulaniya nga bo bwe baabanga abammwe. Mugume mulwane masajja.” Awo Abafirisuuti ne balwana ne bakuba Abaisiraeri, Abaisiraeri ne baddukira buli muntu mu weema ye. Abantu bangi ne battibwa Abaisiraeri ne baffaamu abasserikale abatambula n'ebigere emitwalo esatu (30,000). Essanduuko ya Mukama n'enyagibwa ne batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi ne battibwa. Awo omusajja ow'omu kika kya Benyamini n'ava mu ddwaniro ku lunaku olwo, n'adduka n'atuuka e Siiro nga ayuzizza engoye ze nga yeesiize n'ettaka ku mutwe okulaga obunakuwavu. Awo bwe yatuuka, Eri yali ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'alindirira, kubanga yali nga yeeraliikirira olw'essanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga, naawa abantu amawulire, ekibuga kyonna ne kireekaanira waggulu. Awo Eri bwe yawulira oluyoogaano, n'abuuza nti, “Oluyoogaano olwo lutegeeza ki?” Omusajja n'ayanguwa n'amubuulira. Eri yali awezezza emyaka kyenda mu munaana (98), n'amaaso ge gaali gayimbadde, nga takyayinza kulaba. Omusajja n'agamba Eri nti, “Nze nvudde mu ddwaniro.” Eri n'amubuuza nti, “Bibadde bitya, mwana wange?” Awo eyaleeta amawulire n'addamu nti, “Abaisiraeri bawanguddwa Abafirisuuti. Era abantu bangi nnyo abattiddwa, ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.” Awo olwatuuka, bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n'awanuka ku ntebe ye n'agwa bugazi kumpi n'omulyango, ensingo ye ne kutukako n'afa; kubanga yali mukadde nnyo ate nga muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana (40). Awo mukaamwana wa Eri, muka Finekaasi, yali lubuto lukulu ng'anaatera okuzaala. Bwe yawulira nti essanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, najjirwa okulumwa okuzaala n'afukamira n'azaala. Bwe yali ng'anaatera okufa, abakyala abaali bamulabirira ne bamugamba nti, “Totya, kubanga ozadde omwana wa bulenzi.” Kyokka ye teyabaddamu era teyafaayo. N'atuuma omwana erinnya Ikabodi ng'ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri kubanga essanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne ssezaala we ne bba bafudde.” Awo n'agamba nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri; kubanga essanduuko ya Katonda enyagiddwa.” Abafirisuuti bwe banyaga essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala e Asudodi. Abafirisuuti ne baddira essanduuko ya Katonda ne bagitwala mu ssabo lya Dagoni ne bagiteeka ku mabbali ga Dagoni. Abasudodi bwe baagolokoka enkya ku makya, laba, nga Dagoni agudde wansi nga yevunise mu maaso g'essanduuko ya Mukama ne bamusitula ne bamuzza mu kifo kye. Awo ku lunaku olwokubiri bwe bagolokoka ku makya era ne basanga nga Dagoni agudde wansi nga yevunise mu maaso g'essanduuko ya Mukama; omutwe gwa Dagoni ne bibatu byombi eby'emikono gye nga bikutuseeko nga bigudde ku mulyango; nga ekiwuduwudu kya Dagoni kye kiri awo kyokka. Bakabona ba Dagoni ne bonna abaayingira mu Ssabo lye, kyebaava balema okulinnya mu mulyango gwe mu Asudodi n'okutuusa kati. Naye omukono gwa Mukama ne guzitoowerera nnyo Abasudodi, n'ebitundu ebiriraanyeewo. N'ababonereza n'abalwaza ebizimba. Awo Abasudodi bwe baalaba ebibatuuseko, ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri tejja kubeera mu ffe, kubanga atubonerezza nnyo ffe wamu ne Katonda waffe Dagoni.” Kyebaava batuma ababaka okukuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne babuuza nti, “Tukole tutya essanduuko ya Katonda wa Isiraeri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri eweerezebwe e Gaasi.” Awo ne baweereza essanduuko ya Katonda wa Isiraeri. Awo olwatuuka bwe bagittusaayo, Mukama n'abonereza n'ab'omukibuga ekyo ne batya nnyo n'abalwaza ebizimba ebyafutuuka ku bonna abato n'abakulu. Nabano ne baweereza essanduuko ya Katonda e Ekuloni. Awo olwatuuka, essanduuko ya Katonda bwe yamala okutuuka e Ekuloni, Abaekuloni bonna ne balekana nti, “Batuletedde essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okututta ffenna.” Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne bagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isiraeri gy'ebeera ereme okututta ffenna;” kubanga entiisa y'okufa yabuna ekibuga kyonna; olw'okubonerezebwa okungi okwali kubatuuseko. N'abo abataafa ne balwala ebizimba, okukaaba kw'ekibuga ne kulinnya mu ggulu. Essanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu (7) ng'eri mu nsi ey'Abafirisuuti. Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abalaguzi, ne babuuza nti, “Tukole tutya essanduuko ya Mukama? Mututegeeze tunagiweereza naki okugizaayo mu kifo kyayo.” Ne babaddamu nti, “Bwe munaaba muweerezaayo essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, temujja kugiweerezaayo yokka. Mujja kumuweererezaako ekiweebwayo olw'omusango, lwe munaawona, era ne mutegeera ensonga Mukama kw'abadde asinziira okubabonereza.” Ne babuuza nti, “Kiki kyetunaweereza olw'omusango?” Ne baddamu nti, “Munaweererezaako ebibumbe ebya zaabu bitaano (5), ebibumbiddwa ng'ebizimba, n'ebibumbe ebya zaabu ebirala bitaano (5) ebibumbiddwa ng'emmese, ng'omuwendo gwa buli kika kya bibumbe gwenkana n'omuwendo gw'abaami b'Abafirisuuti kubanga ekibonerezo kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe. Muteekwa okukola ebibumbe by'ebizimba byammwe n'ebibumbe bye mmese zammwe ezoonoona ensi; era muteekwa okuwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri, oboolyawo anaabaggyako okubonerezebwa; mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe. Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe, nga Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima gyabwe? Bwe yamala okubabonereza teebaleka bantu kugenda ne bagenda? Kale nno kaakano muddire ekigaali ekimpya mukiteeketeeke, mukisibeeko ente bbiri (2) ezikamwa ezitasibwangako kikoligo, muzigyeko ennyana zaazo muzizeeyo eka, muddire essanduuko ya Mukama, mugiteeke ku kigaali; muteeke ebintu ebya zaabu, bye mumuweereza okuba ekiweebwayo olw'omusango, mu ssanduuko endala ku mabbali gaayo; mugisindike egende. Mutunule bweneyambukira mu kkubo eriraga e Besusemesi mu nsi yaayo gye beera, awo munategeera nga Katonda wa Isiraeri yeyatubonereza. Naye bwe kitaabe bwe kityo, munategeera nti ebibonerezo ebyatutukako; byatugwira bugwizi.” Abasajja ne bakola bwe batyo; ne baddira ente bbiri (2) ezikamwa, ne bazisiba ku kigaali, ne bazzayo ennyana zaazo eka. Awo ne bateeka essanduuko ya Mukama ku kigaali, ne ssanduuko endala erimu ebibumbe ebya zaabu ebifaanana emmese n'ebyo ebifaanana ebizimba byabwe. Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi; zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo ey'e Besusemesi. N'Ababesusemesi baali nga bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu, ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba. Ekigaali n'ekituuka mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi n'eyimirira eyo, awaali ejjinja eddene; ne baasa emiti gy'ekigaali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Awo Abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n'essanduuko endala eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eryo eddene; Ababesusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne basala ssaddaaka ku lunaku olwo eri Mukama. N'abaami abataano (5), ab'Abafirisuuti bwe baakiraba, ne baddayo e Ekuloni ku lunaku olwo. Ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ebizimba, Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw'omusango bye bino; ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu; Era ne baweereza n'ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ng'emmese, ebyenkana obungi bw'ebibuga byonna ebyafugibwanga abaami b'Abafirisuuti abataano (5), ebyali byetooloddwa ebigo, n'ebyalo ebitaaliko bigo. Ejjinja eddene kwe baateeka Ssanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi, likyaliwo ne leero okukakasa ebyo ebyaliwo. Awo Mukama n'atta ku Babesusemesi abantu nsanvu (70), kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama; abantu ne banakuwala kubanga Mukama yabatta mu abantu bangi nnyo. Ababesusemesi ne boogera nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Era anaagenda waani nga atuvuddeko?” Ne batumira abo abaatuula mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga boogera nti, “Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama; mujje mmwe mugiddukire ebeere gye muli.” Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama. Okuva ku lunaku essanduuko ya Mukama, lwe y'abeera mu Kiriyasuyalimu, wayitawo ekiseera kiwanvu, gyali emyaka abiri (20), n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne bakaabirira Mukama nga bamunoonya. Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti, “Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abalala ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka, naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti.” Awo abaana ba Isiraeri ne balyoka baggyawo Babaali ne Baasutaloosi, ne baweereza Mukama yekka. Awo Samwiri n'ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isiraeri yenna bajje e Mizupa, nange ndibasabira eri Mukama.” Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi era ne bagayiwa mu maaso ga Mukama, era ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti, “Twasobya ku Mukama.” Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri Mizupa. Awo Abafirisuuti bwe baawulira ng'abaana ba Isiraeri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abaami b'Abafirisuuti ne bajja okulumba Isiraeri. N'abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. Abaana ba Isiraeri ne bagamba Samwiri nti, “Tolekerawo kukaabirira Mukama Katonda waffe ku lwaffe atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti.” Awo Samwiri n'addira omwana gw'endiga oguyonka, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba eri Mukama; Samwiri n'akaabira Mukama ku lwa Isiraeri, era Mukama n'amuddamu. Awo Samwiri bwe yali ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri; naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku Bafirisuuti ku lunaku olwo n'abatiisa nnyo ne batabukatabuka ne badduka mu maaso g'abaana ba Isiraeri. Abasajja ba Isiraeri ne bava mu Mizupa ne bawonderera Abafirisuuti ne bagenda nga babatta okutuuka e Besukali. Awo Samwiri n'addira ejjinja, n'alisimba wakati w'e Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya lyalyo Ebenezeri, ng'ayogera nti, “Okutuusa kaakano Mukama atubedde.” Abafirisuuti ne bawangulwa bwe batyo, ne bataddayo lwa kubiri kulumba Isiraeri. Era omukono gwa Mukama gwalwana n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Samwiri. Ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali bawambye ku Baisiraeri, ne bibaddira, okuva ku Ekuloni okutuuka e Gaasi. Bwe batyo Abaisiraeri ne beddiza ebitundu byabwe byonna, okuva ku Bafirisuuti. Era ne wabaawo emirembe wakati w'Abaisiraeri n'Abamoli. Samwiri n'alamulira Isiraeri ennaku zonna ez'obulamu bwe. Buli mwaka neyeetooloolanga ng'agenda e Beseri, Girugaali ne Mizupa; n'alamulira Isiraeri mu bifo ebyo byonna. N'addangayo e Laama kubanga ye yali ennyumba ye; n'alamulira eyo Isiraeri, n'azimba eyo ekyoto eri Mukama. Awo olwatuuka, Samwiri ng'akaddiye, n'afuula batabani be okuba abalamuzi ba Isiraeri. Mutabani we omubereberye erinnya lye Yoweeri; n'ow'okubiri erinnya lye Abiya; abo baali balamuzi mu Beeruseba. Batabani be ne batatambulira mu makubo ge ne banoonya okufuna ebintu, ne balya enguzi, ne misango ne batagisalanga mu bwenkanya. Awo abakadde ba Isiraeri bonna ne balyoka bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, ne bamugamba nti, “Laba, ggwe okaddiye, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go; kale tulondere kabaka atufugenga ng'amawanga amalala gonna.” Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti, “Tulondere kabaka atufugenga.” Samwiri n'asaba Mukama. Mukama n'agamba Samwiri nti, “Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba, kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, okuba kabaka waabwe. Bwe batyo bwe babadde bakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya e Misiri okutuusa leero, nga bandeka ne baweereza bakatonda abalala, naawe bwe baakukola bwe batyo. Kale nno kaakano bawulirize, naye obannyonnyolere ddala engeri kabaka alibafuga gy'alibayisaamu.” Awo Samwiri n'abuulira abantu abaamusaba kabaka ebigambo bya Mukama byonna. N'abannyonnyola nti, “Eno ye ngeri kabaka wammwe gy'alibayisaamu, batabani bammwe alibayingiza mu maggye ge, abamu ne bakola mu magaali ge, abalala ne beebagala embalaasi ze n'abalala nga ba bigere, abakulemberamu amagaali ge. Abantu alibalonda okuba abaduumizi b'ebibinja by'abaserikale olukumi lukumi, n'abalala okuduumira ebibinja by'abaserikale ataano ataano. Era abamu balirima ennimiro ze, ne bakungula ebirime bye, abalala ne baweesa eby'okulwanyisa, n'ebikozesebwa ku magaali ge. Kabaka alitwala bawala bammwe okumukoleranga eby'obuwoowo, n'okumufumbiranga emmere n'emigaati. Era alitwala ennimiro zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni, ezisinga obulungi, n'aziwa abaddu be. Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'emmere yammwe ey'empeke, n'eky'ebibala byammwe eby'emizabbibu n'abigabira abaami be n'abaddu be. Alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'abavubuka bammwe abasinga obulungi, n'endogoyi zammwe, okukola emirimu gye. Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'amagana gammwe, era nammwe mwennyini muliba abaddu be. Mu nnaku ezo mulikaaba olwa kabaka wammwe, mmwe mwennyini gwe muliba mwerondedde, naye olwo Mukama talibaddiramu.” Naye abantu ne bagaana okuwulira eddoboozi lya Samwiri; ne boogera nti, “Nedda; naye twagala kabaka atufuge; naffe tufaanane ng'amawanga gonna; kabaka waffe atusalirenga emisango, atukulemberenga nga ntabaalo era atulwanirenga entalo zaffe.” Samwiri n'awulira ebigambo byonna eby'abantu, n'abitegeeza Mukama. Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Wulira eddoboozi lyabwe obalondere kabaka.” Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti, “Muddeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.” Awo waaliwo omusajja wa Benyamini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, Abiyeeri mutabani wa Zeroli, Zeroli mutabani wa Bekolaasi, ne Bekolaasi mutabani wa Afia Omubenyamini, omusajja ow'amaanyi omuzira. Kiisi yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, omulenzi omulungi, era mu baana ba Isiraeri bonna temwali muntu eyali amusinga obulungi mu ndabika; okuva ku bibegabega bye okudda waggulu, yali asinga abantu bonna obuwanvu. Awo endogoyi za Kiisi kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n'agamba Sawulo mutabani we nti, “Twala omu ku baddu mugende munoonye endogoyi.” Awo n'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ayita ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Awo ne bayita mu nsi ya Saalimu, nga teziri eyo, n'ayita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ne bataziraba. Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n'agamba omuddu we eyali naye nti, “Tuddeyo; kubanga kitange ajja kulekerawo okulowooza ku ndogoyi yeeraliikirire ffe.” Omuddu we n'amugamba nti, “Laba nno, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era omusajja oyo bamussaamu ekitiibwa; byonna by'ayogera bituukirira. Tugende eyo kaakano; mpozzi ye anaayinza okutubuulira eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.” Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti, “Naye, laba, bwe tunaagenda, kiki kye tunaatwalira omusajja? Emmere etuweddeko era tetulina kirabo kyakutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?” Omuddu n'amuddamu Sawulo nti, “Nninawo ekitundu ekyokuna ekya sekeri eya ffeeza, ekyo kye nnaawa omusajja wa Katonda atulagirire ekkubo lyaffe.” Edda mu Isiraeri, omuntu bwe yagendanga okubuuza Katonda, n'ayogeranga bw'ati nti, “Jjangu tugende eri omulabi;” kubanga oyo ayitibwa nnabbi kaakano baamuyitanga mulabi edda. Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti, “Oyogedde bulungi; jjangu tugende.” Awo ne bayingira mu kibuga omwali omusajja wa Katonda. Awo bwe baali balinnya awayambukirwa mu kibuga, ne basanga abawala abato nga bafuluma okusena amazzi, ne babagamba nti, “Omulabi wali wano?” Abawala ne babaddamu nti, “Waali era laba abakulembeddemu mwanguwe, yakatuuka mu kibuga, kubanga leero abantu balina okuwaayo ssaddaaka mu kifo ekigulumivu. Amangu nga mwakayingira mu kibuga, munaamulaba nga tannaba kwambuka mu kifo ekigulumivu okulya; kubanga abantu tebaalye nga tannatuuka, kubanga ye yasabira ssaddaaka omukisa; olwo abaayitiddwa ne balyoka balya. Kale nno kaakano mwambuke mujja kumulaba.” Awo Sawulo n'omuddu we ne bagenda mu kibuga. Bwe baali nga bakiyingiramu, ne balaba Samwiri ng'afuluma ng'ajja gyebali, bwe yali ng'agenda mu kifo ekigulumivu. Awo Mukama yali abikkulidde Samwiri ng'ekyasigaddeyo olunaku lumu Sawulo okujja, ng'agamba nti, “Enkya nga mu kiseera kino nnaaweereza gy'oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri. Ye y'alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti; kubanga ntunuulidde abantu bange, kubanga okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.” Awo Samwiri bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti, “Laba omusajja gwe nnakugambyeko! Oyo ye aliba n'obuyinza ku bantu bange.” Awo Sawulo n'asemberera Samwiri mu mulyango n'ayogera nti, “Mbuulira, nkwegayiridde, ennyumba ey'omulabi w'eri.” Samwiri n'addamu Sawulo nti, “Nze mulabi. Nkulemberamu tugende mu kifo ekigulumivu, kubanga mujja kulya nange olwaleero. Enkya ku makya nnakubuulira ebyo byonna ebiri mu mutima gwo, ndyoke mbasiibule mugende. N'endogoyi zo ezaakamala ennaku ssatu okubula, tozeeraliikirira; kubanga zirabise. Era byonna eby'egombebwa mu Isiraeri biriba by'ani? Tebiriba bibyo ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna?” Sawulo n'addamu n'ayogera nti, “Nze siri Mubenyamini, ow'omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? N'ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez'ekika kya Benyamini? Kale kiki ekikwogeza nange bw'otyo?” Awo Samwiri n'atwala Sawulo n'omuddu we n'abayingiza mu nju ey'abagenyi n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo mu abo abaayitibwa, abantu nga asatu (30). Samwiri n'agamba omufumbiro nti, “Leeta ennyama gyenakuwadde nenkugamba nti, ‘Gitereke.’ ” Awo omufumbi n'aleeta ekisambi n'ebyakiriko n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Eno ye nnyama gye n'akuterekedde. Girye, kubanga yakuterekeddwa okutuusa ku kiseera ekyatekeddwawo, olyoke ogirye n'abagenyi.” Bw'atyo Sawulo n'aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo. Awo bwe baali baserengese mu kibuga okuva mu kifo ekigulumivu, n'ateesa ne Sawulo waggulu ku nnyumba. Ne bagolokoka mu makya, awo olwatuuka obudde nga bukya, Samwiri n'ayita Sawulo waggulu ku nnyumba ng'ayogera nti, “Golokoka, nkusindike ogende.” Sawulo n'agolokoka ne bafuluma bombi, ye ne Samwiri. Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Lagira omuddu ayitemu atukulembere,” n'ayitamu, “naye ggwe yimirira buyimirizi wano nkutegeeze ekigambo kya Katonda.” Awo Samwiri n'addira eccupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'ayogera nti, “Mukama si ye akufuseeko amafuta okuba omukulu w'abantu be Abaisiraeri? Era on'ofuga abantu ba Mukama, n'obawonya mu mukono gw'abalabe baabwe. Kano ke kanaabeera akabonero gyoli, akakakasa nti Mukama akufuuseeko amafuta okubeera omulangira w'obusika bwe. Olwaleero bw'onoova wendi onoolaba abasajja babiri abali okumpi na malaalo ga Laakeeri e Zereza mu nsi ya Benyamini; awo bajja kukugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zirabise: era, laba, kitaawo aleseeyo okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ggwe nga agamba nti, N'akola ntya olw'omwana wange?’ ” “Awo onoovaayo ne weeyongerayo mu maaso, okutuusa lw'onootuuka ku muvule oguli e Taboli, gy'onoosanga abasajja basatu, nga bagenda e Beseri okusinza Katonda. Omu ku bo ajja kuba ng'atwala embuzi ento ssatu, n'omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ensawo ey'eddiba, ey'omwenge ogw'emizabbibu. Awo banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, gwe gikirize. Awo onooyambuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo ky'Abafirisuuti; bw'onoobanga otuuseyo eyo mu kibuga, onoosiŋŋaana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina entongooli n'ebitaasa n'endere n'ennanga nga bibakulembedde; era banaabanga boogera ebigambo bya Katonda. Awo omwoyo gwa Mukama gunajja ku ggwe n'amaanyi, naawe n'oyogera ebigambo bya Katonda wamu nabo, era onoofuuka okuba omuntu omulala. Obubonero obwo bw'onoolaba nga butuukiridde, kola kyonna Katonda kyanaakugamba, kubanga ali wamu naawe. Era onoonkulembera okugenda e Girugaali; nange laba, ndijja gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okusala ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe; ojja kulindiraayo ennaku musanvu ndyoke njije gy'oli nkutegeeze by'oba okola.” Awo olwatuuka Sawulo bweyakyuka okuva awali Samwiri, Katonda n'amuwa omutima omulala, obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo. Awo Sawulo bweyatuuka ku lusozi Gibea, ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana; omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye n'amaanyi, n'ayogera ebigambo bya Katonda wamu nabo. Awo olwatuuka bonna abaamumanyanga edda bwe baamulaba, ng'ayogera ebigambo bya Katonda wamu ne bannabbi, abantu ne bagambagana bokka na bokka nti, “Kiki kino ekituuse ku Sawulo mutabani wa Kiisi? Kaakati naye y'omu ku bannabbi?” Awo omuntu ow'omu kifo ekyo n'abaddamu n'agamba nti, “Bano kitaabwe ye ani?” Awo we waava enjogera egamba nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?” Awo bwe yamala okwogera ebigambo bya Katonda, n'agenda mu kifo ekigulumivu. Awo kojja wa Sawulo n'amubuuza ye n'omuddu we nti, “Mwagenda wa?” Sawulo n'amuddamu nti, “Twagenda kunoonya Ndogoyi, bwe zatubula ne tugenda eri Samwiri.” Kojja wa Sawulo n'amugamba nti, “nkwegayiridde mbuulira Samwiri bye yabagamba.” Sawulo n'agamba kojjaawe nti, “Yatukakasiriza ddala ng'endogoyi bwezaali zirabise.” Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yayogera, teyabimubuulirako. Samwiri n'ayita abantu n'abakuŋŋaanyiza mu maaso ga Mukama e Mizupa; n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘nnaggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri ne mu mukono gw'obwakabaka bwonna obwabajooganga.’ Naye leero mugaanyi Katonda wammwe, abalokola yennyini mu nnaku zammwe zonna n'obuyinike bwammwe; era mumugambye nti, ‘Nedda naye ssaawo kabaka atufuge.’ Kale nno kaakano mweyanjule mu maaso ga Mukama ng'ebika byammwe ne nnyumba zammwe bwe ziri, era ng'enkumi zammwe bwe ziri.” Awo Samwiri n'asembeza ebika byonna ebya Isiraeri, ekika kya Benyamini ne kirondebwamu. N'asembeza ekika kya Benyamini ng'ennyumba zaabwe bwe zaali, ennyumba ey'Abamateri nerondebwa; Sawulo mutabani wa Kiisi naalondebwa; naye ne bamunoonya ne batamulaba. Ne beeyongera okubuuza Mukama nti, “Waliwo omusajja atannatuuka wano?” Mukama n'addamu nti, “Wuuli, yeekwese mu bintu.” Ne badduka mbiro ne bamukukunulayo. Awo bwe yayimirira mu bantu, nga abasinga bonna obuwanvu okuva ku bibegabega bye okudda waggulu. Awo Samwiri n'agamba abantu bonna nti, “Mulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu bantu bonna?” Abantu bonna ne balekanira waggulu nti, “Kabaka abeere omulamu.” Awo Samwiri n'alyoka abuulira abantu nga obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika, mu kitabo n'akitereka mu maaso ga Mukama. Samwiri n'asiibula buli omu n'addayo ewaabwe. Ne Sawulo naye n'addayo ewuwe e Gibea; n'agenda n'eggye ly'abasajja abazira, Katonda be yali akute ku mitima gyabwe. Naye waliwo abasajja abataliimu nsa ne bagamba nti, “Omusajja oyo alitulokola atya?” Ne bamunyooma ne batamuleetera kirabo. Naye ye n'asirika. Awo Nakkasi Omwamoni n'alumba ekibuga Yabesugireyaadi naakizingiza; abantu bonna ab'e Yabesi ne bagamba Nakkasi nti, “Kola naffe endagaano tukuweerezenga.” Nakkasi Omwamoni n'abagamba nti, “Nja kulagaana nammwe endagaano, singa mukkiriza okubajjamu amaaso gammwe gonna aga ddyo; ndyoke nfuule Isiraeri ekivume.” Abakadde ab'e Yabesi ne bamusaba nti, “Tuwe ebbanga lya nnaku musanvu (7) tutume ababaka wonna mu Isiraeri, awo bwe walibulawo omuntu yenna ow'okutulokola, tulijja ne twewaayo gy'oli.” Awo ababaka ne bagenda e Gibea ekya Sawulo ne bategeeza abantu ebigambo ebyo byonna; awo abantu bonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga. Awo Sawulo n'ajja nga ava mu nnimiro nga agoba ente; n'abuuza nti, “Abantu babadde ki, lwaki bakaaba amaziga?” Ne bamubuulira ebigambo by'abasajja abavudde e Yabesi. Awo Sawulo bweyawulira ebigambo ebyo; omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye n'amaanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. Awo Sawulo n'addira ente bbiri (2) n'azitematemamu ebitundu n'abiwa ababaka, ne babitwala wonna mu Isiraeri nga bagamba nti, “ Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa.” Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu. N'ababalira e Bezeki; abava mu Isiraeri baali obusiriivu busatu (300,000), n'abaava mu Yuda baali emitwalo esatu (30,000). Ne bagamba ababaka nti, “Mugambe abantu ab'e Yabesugireyaadi nti, ‘Enkya, omusana nga gwase, munaafuna obulokozi.’ ” Ababaka ne bagenda ne babuulira abantu be Yabesi ebigambo ebyo ne basanyuka nnyo. Abantu be Yabesi ne batumira Nakkasi ne bamugamba nti, “Enkya tujja kujja gye muli mutukole byonna bye mwagala.” Awo olwatuuka enkeera Sawulo n'agabanyaamu abasajja be ebibinja bisatu; ne bagenda wakati mu lusiisira obudde nga bunaatera okukya, ne bakuba era n'ebatta Abamoni okutuusa omusana lwe gwakaza; abasigalawo ne basaasaana ne watasigala babiri abaali awamu. Abantu ne babuuza Samwiri nti, “Baani ababuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Baleete tubatte.” Sawulo n'ayogera nti, “Tewaabeewo muntu n'omu anattibwa leero; kubanga Mukama ye yalokodde Isiraeri.” Awo Samwiri n'agamba abantu nti, “Mujje tugende e Girugaali, tunywereze eyo nate obwakabaka.” Abantu bonna ne bagenda e Girugaali; Sawulo ne bamufuulira eyo kabaka mu maaso ga Mukama; ne basalira eyo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama; Sawulo n'abasajja bonna aba Isiraeri ne basanyukira nnyo eyo. Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti, “Laba; mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era ntaddewo kabaka okubafuga. Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe; nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe, era n'atambulira mu maaso gammwe okuva mu buto bwange ne leero. Nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta, ani gwe nnanyagako ente ye? Oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Ani gwe nnali njooze? Oba ani gwennajjako enguzi okunziba amaaso? Munnumirize nange nnabasasula.” Ne baddamu nti “Totulyazaamaanyangako, totujoogangako, so tolyanga nguzi ku muntu yenna.” N'abagamba nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero kubanga temulabye kibi kyonna kye nali nkoze.” Ne baddamu nti, “Ye mujulirwa.” Samwiri n'agamba abantu nti, “Mukama ye mujulirwa eyassaawo Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri. Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mbalumirize era mbajjukize ebikolwa byonna eby'obutuukirivu Mukama byeyabakolera mmwe ne bajjajjammwe. Yakobo bwe yali mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni ne baggyayo bajjajjammwe mu Misiri, Mukama n'abatuuza mu kifo kino. Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abawaayo mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo. Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti, ‘Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze.’ Awo Mukama n'atuma Yerubbaali, Bedani, Yefusa ne Samwiri, n'abalokola mu mukono gw'abalabe bammwe enjuyi zonna, ne mutuula mirembe. Awo bwe mwalaba nga Nakkasi kabaka w'abaana ba Amoni ng'abatabadde, ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, naye kabaka ye alitufuga,’ so nga Mukama Katonda wammwe ye kabaka wammwe. Kale nno kaakano mulabe kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba, Mukama amutaddewo okubafuga. Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga ne mugonderanga eddoboozi lye ne mutajeemeranga kiragiro kye ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne kabaka wammwe abafuga; kale munaabanga ne mirembe; naye bwe mutaawulirenga ddoboozi lya Mukama, naye ne mujeemera ekiragiro kye, awo omukono gwa Mukama gunaalwananga nammwe nga bwe gwalwananga ne bajjajjammwe. Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mulabe ekigambo kino ekikulu Mukama ky'anaakolera mu maaso gammwe. Ekiseera kino si kye ky'amakungula g'eŋŋaano? Naye nja kusaba Mukama aweereze okubwatuka era attonyese enkuba, mulyoke mulabe era mumanye nga mwakola obubi bunene okwesabira kabaka.” Awo Samwiri n'asaba Mukama; Mukama n'aweereza okubwatuka n'enkuba ku lunaku olwo; abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri. Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa; kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, eky'okwesabira kabaka.” Samwiri n'agamba abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ekibi kino kyonna, naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna; Era temukyamanga ne mugoberera ebitaliimu nsa, ebitayinza kugasa, wadde kuwonya, kubanga tebiriimu nsa. Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu; kubanga yasiima mmwe okubafula eggwanga lye. Naye kikafuuwe nze okusobya ku Mukama okulekayo okubasabira, n'okubayigiriza ekkubo eddungi eggolokofu. Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna; kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu. Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mulizikirira mmwe era ne kabaka wammwe.” Sawulo yali awezezza emyaka asatu (30), bwe yatandika okufuga; n'afugira Isiraeri emyaka ebiri (2). Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu (3,000), enkumi ebbiri (2,000) ne babeeranga naye e Mikumasi ne ku lusozi e Beseri, ate olukumi (1,000) ne baabeeranga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini; abantu abalala bonna n'abasiibula okuddayo ewaabwe. Yonasaani n'akuba ekigo eky'Abafirisuuti ekyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna ensi yonna, ng'ayogera nti, “Abaebbulaniya bawulire.” Isiraeri yenna ne bawulira nga boogera nga Sawulo akubye ekigo eky'Abafirisuuti era nga Isiraeri Abafirisuuti bamutamiddwa. Abantu ne bakuŋŋaanira e Girugaali okugoberera Sawulo. Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okulwana ne Isiraeri nga balina amagaali emitwalo esatu (30,000), n'abasajja abeebagala embalaasi kakaaga (6,000), n'abantu abaali abangi ng'omusenyu gw'oku ttale lye nnyanja; ne bambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Besaveni. Abaisiraeri bwe baalaba nga bali mu kabi, era ng'eggye lyabwe lifumbiikiriziddwa, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka, ne mu mpampagama z'enjazi ne mu bunnya. Era abamu ku Baebbulaniya baali basomose Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi, naye Sawulo yali ng'akyali e Girugaali, abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana. Sawulo nnamala ennaku musanvu e Girugaali nga alinda Samwiri nga bwe yali amugambye, naye Samwiri nnaatajja; abantu ne basaasaana nga bamuvaako. Sawulo n'agamba nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.” N'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa. Awo olwatuuka nga kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, laba Samwiri n'ajja; Sawulo n'afuluma okumusisinkana amulamuse. Samwiri n'agamba nti, “Okoze ki?” Sawulo n'addamu nti, “Nnalabye ng'abantu basaasaana nga banvaako, ate nga naawe tojjidde mu nnaku ze wagamba, n'Abafirisuuti nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi; ne ŋŋamba nti, ‘Abafirisuuti bagenda kuserengeta bannumbe wano e Girugaali, ate nga sinnaba kwegayirira Mukama kunkwatirwa kisa.’ Kyennavudde nneewaliriza n'empaayo ekiweebwayo ekyokebwa.” Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Wakoze kya busirusiru, tokutte kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira; kubanga kaakano Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Isiraeri ennaku zonna. Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera; Mukama yeenoonyerezza omusajja alina omutima ogulinga ogugwe, era Mukama amutaddewo okuba omukulu w'abantu be, kubanga ggwe togondedde ekyo Mukama kye yakulagira.” Awo Samwiri n'agolokoka n'ava e Girugaali n'ayambuka e Gibea ekya Benyamini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga (600). Sawulo ne Yonasaani mutabani we n'abantu abaali awamu nabo ne batuula e Geba ekya Benyamini; naye Abafirisuuti ne basiisira e Mikumasi. Abakwekwesi ne bava mu lusiisira olw'Abafirisuuti ebibinja bisatu (3), ekibinja ekimu ne kidda mu kkubo erigenda e Yofula, mu nsi ya Suwaali, eky'okubiri (2) ne kidda mu kkubo erigenda e Besukolooni, n'eky'okusatu (3) ne kidda mu kkubo ery'ensalo w'oyima waggulu okutunuulira ekiwonvu Zeboyimu ku luuyi olw'eddungu. Mu nsi ya Isiraeri yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafirisuuti baagamba nti, “Abaebbulaniya baleme okweweeseza ebitala oba amafumu;” Abaisiraeri bonna baagendanga mu Bafirisuuti okuwagala enkumbi zaabwe, n'ebiwabyo byabwe, n'embazzi zaabwe, n'ebifumu byabwe. Ne babawoozangako ssente bbiri okuwagala enkumbi n'ebiwabyo, ate ne babaggyangako ssente emu okuwagala embazzi, n'okuddaabiriza emiwunda. Kale ku lunaku olw'olutalo, tewaali muntu n'omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala, wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani. Abafirisuuti abaali mu lusiisira ne bafuluma okugenda okukuuma awayingirirwa okulaga e Mikumasi. Awo olunaku lwali lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agamba omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye, nti, “Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'Abafirisuuti ekiri emitala w'eri.” Naye n'atabuulirako kitaawe. Sawulo yali ku njegoyego za Gibea wansi w'omukomamawanga oguli e Miguloni; abasajja abaali naye baali nga lukaaga (600), ne Akiya mutabani wa Akituubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro ng'ayambadde ekkanzu y'obwakabona. Abantu ne batamanya nga Yonasaani agenze. Wakati awayingirirwa, Yonasaani we yali alina okuyita okutuuka ku kigo ky'Abafirisuuti waaliwo amayinja amasongovu eruuyi ne ruuyi; erimu ng'aliyitiibwa Bozezi, n'eddala nga liyitibwa Sene. Ejjinja erimu lyali ku luuyi olw'obukiikakkono okwolekera Mikumasi, n'eddala ku luuyi olw'obukiikaddyo okwolekera Geba. Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye nti, “Jjangu tugende eri ekigo eky'abatali bakomole bano; oba olyawo Mukama anaatukolera omulimu; kubanga Mukama tewali kimuziyiza okulokola n'abangi oba n'abatono.” Eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye n'amugamba nti, “Kola byonna ebiri mu mutima gwo. Genda mu maaso nze ndi wamu naawe, ng'omutima gwo bwe guli n'ogwange.” Awo Yonasaani n'agamba nti, “Kale tugende twerage eri Abafirisuuti. Awo bwe banaatugamba nti, ‘Mubeere eyo okutuusa lwe tunajja gye muli;’ kale tunaayimirira buyimirizi mu kifo kyaffe ne tutagenda gyebali. Naye bwe banaayogera nti, ‘Mujje gyetuli;’ awo tunagenda; kubanga ako ke kanaabeera akabonero nga Mukama abagabudde mu mukono gwaffe.” Awo bombi ne beeraga eri Abafirisuuti; Abafirisuuti ne bagamba nti, “ Laba, Abaebbulaniya bafuluma mu bunnya mwe baali beekwese.” Abasajja ab'omu kigo ne bakoowoola Yonasaani n'omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye ne babagamba nti, “Mujje gyetuli tubalage enkola.” Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye nti, “Ngoberera tugende kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwa Isiraeri.” Awo Yonasaani n'alinnya linnya ng'ayavula n'omulenzi eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye ng'amugoberera. Yonasaani n'alumba Abafirisuuti n'abakuba, nga n'oyo eyamusitulirangako eby'okulwanyisa bye bwa batta. Era mu lutta olwo olwolubereberye Yonasaani n'omusituzi w'eby'okulwanyisa bye batta abasajja ng'abiri (20), mu kibangirizi kya kitundu kya yiika. Abafirisuuti abali mu kigo n'abaali mu nnimiro n'abalala bonna ne bakankana olw'okutya. Abaali mu kigo era n'abo abagenda okunyaga ne batekemuka nnyo. Ensi n'ekankana newabaawo entiisa nnene. N'abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea ekya Benyamini ne batunula; ne balaba ekibiina ky'Abafirisuuti nga kibuna emiwabo olw'entiisa. Awo Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti, “Mubale abantu tulabe abataliiwo.” Awo bwe babala ne bazuula nga Yonasaani n'eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nga tebaliiwo. Sawulo n'agamba Akiya nti, “Leeta wano ssanduuko ya Katonda.” Kubanga essanduuko ya Katonda yali eyo mu biro ebyo essanduuko ya Katonda yali wamu n'abaana ba Isiraeri. Awo olwatuuka, Sawulo bwe yali nga akyayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne lubaawo ne lweyongera; Sawulo n'agamba kabona nti, “Zzaayo omukono gwo.” Awo Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne balumba Abafirisuuti okulwana nabo; naye ne basanga nga Abafirisuuti battiŋŋana bokka olw'okutabukatabuka okwali mu bo. Awo Abaebbulaniya abaali mu Bafirisuuti edda, era abagenda nabo mu lusiisira okuva mu nsi eyeetooloodewo, nabo ne bakyuka ne begatta ku Baisiraeri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. Awo Abaisiraeri bonna abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, bwe baawulira Abafirisuuti nga badduse, nabo ne bajja ne beetaba mu lutalo ne babawondera. Awo Mukama n'alokola bw'atyo Isiraeri ku lunaku olwo; olutalo ne luggukira e Besaveni. Abaisiraeri ne babonaabona nnyo ku lunaku olwo; kubanga Sawulo yali alayiza abantu bonna ng'agamba nti, “Omuntu yenna anaabaako kaalya nga tebunawungeera era nga sinaba kuwalana ggwanga ku balabe bange akolimirwe.” Awo ne wataba muntu yenna alya ku mmere. Abantu bonna ne batuuka mu kibira, ne basanga omubisi gw'enjuki nga guttonye wansi wonna. Awo abantu bwe batuuka mu kibira, laba, omubisi gw'enjuki nga gutonnya; naye ne wataba muntu yenna eyagukombako; kubanga baatya ekirayiro. Naye Yonasaani teyawulira kitaawe bwe yalayiza abantu ekirayiro; kyeyava agolola omusa gw'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'agunnyika mu bisenge by'enjuki, nalyako nnafuna amaanyi. Awo omu ku bantu n'amugamba nti, “Kitaawo yakuutira abantu n'abalayiza nga agamba nti, ‘Omuntu anaabaako kalya leero akolimirwe.’ ” Abantu kyebavudde bagwamu amaanyi. Yonasaani n'agamba nti, “Kitange abonyaabonyeza abantu kale laba nze bwenzizeemu amaanyi bwendezeeko akatono ku mubisi gw'enjuki guno. Tekyandisinzeko obulungi, singa olwaleero abantu baalidde ne bakkuta ku munyago gw'abalabe baabwe gwe baasanze era tebandisse Abafirisuuti bangi okusingawo?” Ku lunaku olwo batta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni, Naye mu kiseera ekyo Abaisiraeri baali bayongobedde olw'enjala. Awo abantu ne bagwa ku munyago, ne banyaga endiga n'ente n'ennyana ne bazittira awo; ne bazirya awamu n'omusaayi gwazo. Awo ne bamubuulira Sawulo nti, “Laba abantu banyiziiza Mukama ne balya ennyama erimu omusaayi.” Sawulo n'agamba nti, “Musobezza, kale munjiringisize wano ejjinja eddene.” Sawulo n'agamba nti, “Mugende mu bantu, mubagambe nti, ‘Buli muntu andetere ente ye oba endiga ye muzittire wano mulye, muleme okunyiiza Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Ekiro ekyo abantu bonna ne baleeta buli omu ente ye ne bazittira eyo. Sawulo n'azimbira Mukama ekyoto; ekyo kye kyali ekyoto eky'olubereberye kye yazimbira Mukama. Awo Sawulo n'ayogera nti, “Tuserengete tulumbe Abafirisuuti ekiro, tubanyage okutuusa emmambya lw'eneesala, tubattire ddala bonna.” Ne baddamu nti, “Kola kyonna kyonna ky'osiima.” Naye kabona n'agamba nti, “Tumale okwebuuza ku Katonda.” Sawulo n'abuuza Katonda amagezi nti, “Nserengete okugoberera Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwa Isiraeri?” Naye Katonda n'atamuddamu ku lunaku olwo. Sawulo n'ayogera nti, “Musembere wano, mmwe mwenna abakulu b'abantu; mwetegereze mulabe kibi ki ekikoleddwa olwaleero. Kubanga Mukama alokola Isiraeri nga bw'ali omulamu, newakubadde nga kiri ku mutabani wange Yonasaani, taaleme kufa.” Naye ne wataba muntu n'omu mu bantu bonna eyamuddamu. Awo n'agamba Isiraeri yenna nti, “Mmwe mubeere ku luuyi lumu, nange ne Yonasaani mutabani wange tunaaba ku luuyi olulala.” Abantu ne bagamba Sawulo nti, “Kola nga bw'osiima.” Sawulo n'agamba Mukama Katonda wa Isiraeri nti, “Salawo ekituufu.” Awo akalulu ne kakwata Yonasaani ne Sawulo, abantu ne bawona. Sawulo n'ayogera nti, “Kati mukubire nze ne mutabani wange Yonasaani akalulu.” Akalulu ne kagwa ku Yonasaani. Awo Sawulo n'agamba Yonasaani nti, “Mbuulira by'okoze.” Yonasaani n'amugamba nti, “Okulega naleze ku tubisi tw'enjuki n'omusa gw'omuggo ogubadde mu mukono gwange; kale, laba kiŋŋwanidde okufa.” Sawulo n'ayogera nti, “Katonda ambonereze n'obukambwe singa Yonasaani tottibwa.” Abantu ne bagamba Sawulo nti, “Yonasaani anaafa akoze obulokozi buno obukulu mu Isiraeri? Kikafuuwe: nga Mukama bw'ali omulamu, tewaliba ku nviiri ze na lumu olunaagwa wansi: kubanga akoledde wamu ne Katonda leero.” Awo abantu ne banunula bwe batyo Yonasaani, n'atafa. Awo Sawulo n'alekerawo okuwondera Abafirisuuti. Abafirisuuti ne baddayo ewaabwe. Awo Sawulo bwe yamala okufuuka kabaka wa Isiraeri, n'alwana n'abalabe be bonna enjuyi zonna, Mowaabu n'abaana ba Amoni ne Edomu ne bakabaka ba Zoba n'Abafirisuuti; buli gye yakyukiranga yonna n'abawangula n'abayisa bubi. N'alwana n'obuzira n'akuba Abamaleki, n'alokola Isiraeri mu mikono gy'abo abaabanyaganga. Ne batabani ba Sawulo baali Yonasaani ne Isuvi ne Malukisuwa; n'amannya ga bawalawe ababiri ge gano; omubereberye erinnya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali; ne mukazi wa Sawulo erinnya lye yali Akinoamu omwana wa Akimaazi; n'omukulu w'eggye lye erinnya lye yali Abuneeri mutabani wa Neeri muganda wa kitaawe wa Sawulo. Ne Kiisi ye kitaawe wa Sawulo; ne Neeri kitaawe wa Abuneeri yali mutabani wa Abiyeeri. Sawulo mu bulamu bwe bwonna yalwanyisa nnyo Abafirisuuti. Bwe yasanganga omusajja ow'amaanyi oba omuzira, ng'amuyingiza mu ggye lye. Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Mukama yantuma okukufukako amafuta okuba kabaka w'abantu be Isiraeri; kale nno kaakano wulira ebigambo bya Mukama. Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti, ‘Nja kubonereza Abamaleki olw'ebyo bye bakola Isiraeri, bwe baamuziyiza mu kkubo ne babagana okuyitawo bwe bali bava e Misiri. Kaakano genda okube Amaleki, ozikiririze ddala byonna bye balina, so tobasaasira; naye batte abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, ente n'endiga, eŋŋamira n'endogoyi.’ ” Awo Sawulo n'ayita abantu n'ababalira e Terayimu, baali abasajja emitwalo abiri (200,000) abatambula n'ebigere, n'abava mu Yuda omutwalo gumu (10,000). Sawulo n'atuuka ku kibuga kya Amaleki n'ateegera mu kiwonvu. Sawulo n'agamba Abakeeni nti, “Mugende muveewo muserengete okuva mu Bamaleki nneme okubazikiriza awamu nabo; kubanga mwakola eby'ekisa abaana ba Isiraeri bonna, bwe baava mu Misiri.” Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki. Sawulo n'akuba Abamaleki, okuva e Kavira ng'ogenda e Ssuuli, ekyolekera Misiri. N'awamba Agagi kabaka w'Abamaleki, n'azikiririza ddala abantu bonna n'obwogi bw'ekitala. Naye Sawulo n'abantu ne basonyiwa Agagi n'endiga ezaasinga obulungi n'ente n'ennyana ezassava n'abaana b'endiga n'ebirungi byonna, ne bagaana okubizikiririza ddala; naye ebibi byonna era ebitali bya muwendo ebyo ne babizikiririza ddala. Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijja eri Samwiri ng'ayogera nti, “Nejjusizza kubanga nakuza Sawulo okuba kabaka; kubanga azzeeyo ennyuma n'atangoberera so tagondedde biragiro byange.” Awo Samwiri n'asunguwala; n'akaabira Mukama okukeesa obudde. Awo Samwiri n'akeera enkya n'agenda okusisinkana ne Sawulo; Samwiri ne bamubuulira nti, “Sawulo bweyatuuka e Kalumeeri neyezimbira ekijjukizo, n'akyuka n'agenda e Girugaali.” Awo Samwiri n'ajja eri Sawulo, Sawulo n'amugamba nti, “Mukama akuwe omukisa; ntuukiriza ekiragiro kya Mukama.” Awo Samwiri n'ayogera nti, “Okubejjagala kuno okw'endiga n'okuŋooŋa kw'ente kwe mpulira mu matu gange makulu ki?” Sawulo n'ayogera nti, “Baaziggye ku Bamaleki ne bazireeta; kubanga abantu baalekawo endiga n'ente ezaasinga obulungi, ziwebweyo nga ssaddaaka eri Mukama Katonda wo; naye ebirala tubizikiririzza ddala.” Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Sooka oleke nkubuulire Mukama bye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n'addamu nti, “Yogera.” Samwiri n'agamba nti, “Newakubadde wali wenyooma tewafuuka mukulembeze w'ebika bya Isiraeri? Mukama n'akufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri; Mukama n'akutuma omulimu, nga agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala Abamaleki abo abalina ebibi, obalwanyise okutuusa bonna lwe balimalibwawo.’ Kale kiki nno ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, naye n'ogwa ku munyago, n'okola ekibi ekyanyiza Mukama?” Sawulo n'addamu Samwiri nti, “Nagondera eddoboozi lya Mukama, ne ŋŋenda ne nkola omulimu Mukama gwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka wa Amaleki, ne nzikiririza ddala Abamaleki. Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n'ente, ebyasinga obulungi mw'ebyo ebyali bigenda okuzikirizibwa, biweebweyo okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wo e Girugaali.” Samwiri n'ayogera nti, “Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw'asanyukira okugondera eddoboozi lye? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume. Kubanga okujeema kuliŋŋaanga ekibi eky'obulaguzi, n'obukakanyavu buliŋŋaanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka.” Awo Sawulo n'agamba Samwiri nti, “Nnayonoona, kubanga nnasobya ekiragiro kya Mukama n'ebigambo byo; kubanga nnatya abantu ne ŋŋondera eddoboozi lyabwe. Kale nno kaakano, nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange, tuddeyo ffembi nsinze Mukama nate.” Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Sijja kuddayo naawe; kubanga wagaana okukola nga Mukama bwe yakulagira, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri.” Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, Sawulo n'akwata ekirenge ky'ekyambalo kye ne kiyulika. Awo Samwiri n'amugamba nti, “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isiraeri leero, n'abuwa omuntu omulala akusinga obulungi. Era Maanyi ga Isiraeri talimba so teyejjusa, kubanga si muntu okwejjusa.” Sawulo n'alyoka ayogera nti, “Nnayonoona, naye nzisaamu ekitiibwa kaakano, nkwegayiridde, mu maaso g'abakadde b'abantu bange ne mu maaso ga Isiraeri, tuddeyo ffembi nsinze Mukama Katonda wo nate.” Awo Samwiri n'addayo nate ne Sawulo; Sawulo n'asinza Mukama. Awo Samwiri n'agamba nti, “Mundeetere wano Agagi kabaka w'Abamaleki.” Agagi n'ajja eri Samwiri ng'asanyuka. Agagi n'ayogera nti, “Mazima obubalagaze obw'okufa buyise.” Samwiri n'agamba Agagi nti, “Ng'ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw'atyo ne nnyoko bw'anaaba mu bakazi banne nga talina mwana.” Awo Samwiri n'atemeratemera Agagi mu maaso ga Mukama e Girugaali. Awo Samwiri n'alyoka agenda e Laama; Sawulo n'ayambuka mu nnyumba ye e Gibea ekya Sawulo. Samwiri okutuusa lwe yafa n'ataddayo kulaba Sawulo; kubanga Samwiri yanaakuwalira Sawulo. Ne Mukama ne yejjusa kubanga yafuula Sawulo kabaka wa Isiraeri. Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? Jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, ŋŋenda kukutuma eri Yese Omubesirekemu, kubanga nneefunidde kabaka mu batabani be.” Samwiri n'ayogera nti, “Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita.” Mukama n'amugamba nti, “ Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti, ‘Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’ Oyite Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw'olikola; era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwatulira erinnya.” Awo Samwiri n'akola ekyo Mukama kye yamugamba n'agenda e Besirekemu. Abakadde b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana ne bamubuuza nti, “Ozze mirembe?” Samwiri n'addamu nti, “Mirembe; nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama, mwetukuze tugende ffenna ku ssaddaaka.” N'atukuza Yese ne batabani be n'abayita okujja ku ssaddaaka. Awo olwatuuka nga batuuse n'atunuulira Eriyaabu n'ayogera nti, “Mazima ono Mukama gw'alonze okufukako amafuta.” Naye Mukama n'agamba Samwiri nti, “Totunuulira ndabika ye newakubadde obuwanvu bwe; kubanga mugaanyi, kubanga Mukama talaba ng'abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw'okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” Awo Yese n'alyoka ayita Abinadaabu n'amuyisa mu maaso ga Samwiri. Samwiri n'ayogera nti, “Era n'oyo Mukama tamulonze.” Awo Yese n'ayisaawo Samma. Samwiri n'ayogera nti, “Era n'oyo Mukama tamulonze.” Awo Yese n'ayisa batabani be musanvu (7) mu maaso ga Samwiri. Samwiri n'agamba Yese nti, “Mukama talonze mu abo.” Samwiri n'abuuza Yese nti, “Batabani bo bonna we bali wano?” Yese n'addamu nti, “Wakyasigaddeyo asembayo obuto, alunda ndiga.” Samwiri n'agamba Yese nti, “Tumya bamukime, tetujja kutuula okutuusa nga azze wano.” N'atumya n'amuyingiza. Yali mumyufu n'amaaso ge nga malungi era eyeegombebwa okutunuulirwa. Mukama n'agamba nti, “Golokoka omufukeko amafuta; kubanga ye wuuyo.” Awo Samwiri n'alyoka addira ejjembe ery'amafuta, n'amufukako amafuta wakati mu baganda be omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n'amaanyi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo Samwiri n'asituka n'addayo e Laama. Awo omwoyo gwa Mukama gwali guvudde ku Sawulo, n'omuzimu omubi ogwava eri Mukama ne gumunakuwaza. Awo abaddu ba Sawulo ne bamugamba nti, “Laba nno, omuzimu omubi oguva eri Katonda gukunakuwaza. Mukama waffe alagire kaakano abaddu bo, abali mu maaso go, okunoonya omusajja omukubi w'ennanga ow'amagezi; awo olunaatuukanga omuzimu omubi oguva eri Katonda bwe gunaabanga ku ggwe, kale anaakubanga ennanga n'engalo ze naawe onoobeeranga bulungi.” Sawulo n'agamba abaddu be nti, “Munfunire nno omusajja ayinza okukuba obulungi ennanga mumundeetere.” Awo omu ku balenzi n'addamu n'ayogera nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu, omukubi w'ennanga ow'amagezi, omusajja omulwanyi ow'amaanyi era omuzira, omutegeevu mu kwogera, omuntu omulungi era ne Mukama ali wamu naye.” Sawulo kyeyava atumira Yese ababaka n'amugamba nti, “Mpeereza Dawudi mutabani wo alunda endiga.” Yese n'addira endogoyi n'agitikka emigaati n'ensawo ey'eddiba ejjudde omwenge n'omwana gw'embuzi, n'abikwasa Dawudi mutabani we, abitwalire Sawulo. Awo Dawudi n'ajja eri Saulo n'atandika okumuweereza. Sawulo n'amwagala nnyo era nnamulonda n'okusitulanga eby'okulwanyisa bye. Sawulo n'atumira Yese n'amugamba nti, “Kiriza Dawudi abeerenga nange ampeereze; kubanga mwagadde nnyo.” Awo olwatuukanga omuzimu omubi ogwava eri Katonda bwe gwajjanga ku Sawulo, Dawudi naakubanga ennanga; Olwo Sawulo omuzimu omubi ne gumuvaako nakkakkana n'abeera bulungi. Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko ekya Yuda, ne basiisira wakati w'e Soko ne Azeka mu Efusudammimu. Sawulo n'abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n'Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bayimirira ku lusozi eruuyi ne Isiraeri n'ayimirira ku lusozi eruuyi, ekiwonvu nga kiri wakati waabwe. Ne mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne muva omuzira, erinnya lye Goliyaasi, ow'e Gaasi, obuwanvu bwe emikono mukaaga (6) ko oluta. Era yali atikkidde sseppewo ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'ayambala ekizibawo eky'ekikomo; n'obuzito bw'ekizibawo bwali sekeri enkumi ttaano (5,000) ez'ekikomo. Era yali ayambadde ku magulu eby'ebikomo, era yalina n'effumu ery'ekikomo ku kibegabega kye. N'olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋaanga omuti ogulukirwako engoye; n'effumu lye lyennyini obuzito bwalyo sekeri lukaaga (600) ez'ekyuma; n'oyo eyatwalanga engabo ye n'amukulemberanga. Awo n'ayimirira n'alangira eggye lya Isiraeri n'abagamba nti, “Mwafulumira ki okusimba ennyiriri zammwe? Nze siri Mufirisuuti nammwe baddu ba Sawulo? Mwerondemu omusajja aserengete ajje gye ndi. Bw'analwana nange n'anzita, kale tunaaba baddu bammwe; naye nze bwe nnamutta, mmwe munaaba abaddu baffe ne mutuweereza.” Omufirisuuti n'ayogera nti, “Nsoomozezza eggye lya Isiraeri leero; mumpe omusajja tulwane ffembi.” Awo Sawulo ne Isiraeri yenna bwe baawulira ebigambo ebyo eby'Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo. Dawudi yali mutabani wa Mwefulaasi ow'e Besirekemuyuda erinnya lye Yese. Yese yalina batabani be munaana (8), era mu mirembe gya Sawulo yali akaddiye nnyo ng'akootakoota. Batabani ba Yese abakulu abasatu (3) baali bagenze ne Sawulo mu lutalo; amannya gaabwe ge gano, Omubereberye Eriyaabu, Ow'okubiri Abinadaabu, n'ow'okusatu Samma. Dawudi ye yali asembayo obuto. Bakulu be abo abasatu (3) bali baagoberedde Sawulo. Naye Dawudi yaweerezanga Sawulo nga bwadda n'ekka okulunda endiga za kitaawe e Besirekemu. Omufirisuuti yasomozanga Isiraeri enkya n'akawungeezi okumalira ddala ennaku ana (40). Awo Yese n'agamba Dawudi mutabani we nti, “Twalira nno baganda bo abali mu lusiisira, efa y'eŋŋaano eno ensiike n'emigaati gino ekkumi (10), oyanguwe obitwale mu lusiisira; twalira omuduumizi we kibinja kyabwe eky'olukumi (1,000) ebitole bino kkumi (10) eby'amata amakalu, olabe baganda bo bwe bali, era obaggyeko ne kintu kyonna ekinankakasa nga obalabye. Sawulo ne baganda bo, n'Abaisiraeri bonna, baali mu lutalo mu kiwonvu ky'e Era, balwanyisa Abafirisuuti.” Enkeera, Dawudi n'agolokoka mu makya, endiga n'azirekera omusumba, n'atwala ebintu nga Yese bwe yamulagira; n'atuuka mu kifo eky'amagaali, eggye lyali lifuluma okulwana era nga bayimba ennyimba z'entalo. Awo Isiraeri n'Abafirisuuti ne basimba ennyiriri, eggye nga lyolekera eggye. Dawudi n'aleka omugugu gwe mu mukono gw'omukuumi w'emigugu, n'adduka mbiro eri eggye n'ajja n'alamusa baganda be. Awo bwe yali anyumya nabo, Goliyaasi omuzira Omufirisuuti ow'e Gaasi, naava mu nnyiriri z'Abafirisuuti n'ayogera ebigambo ebisomoza eggye lya Isiraeri, Dawudi n'abiwulira. Awo abasajja bonna aba Isiraeri bwe baalaba omusajja ne batya nnyo ne badduka. Abasajja Abaisiraeri ne bagamba nti, “Mulabye omusajja oyo eyesowoddeyo? Mazima asomozezza nnyo Isiraeri; naye omuntu yenna anaamutta, kabaka ajja kumuwa obugagga bungi, amuwe ne muwala we amuwase ne nnyumba ya kitaawe agifuule ya ddembe mu Isiraeri.” Awo Dawudi n'abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Omuntu anatta Omufirisuuti ono, n'aggya ekivume ku Isiraeri anaakolebwa atya? Kubanga Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?” Abantu ne bamuddamu bwe bati nga boogera nti, “Bw'atyo bw'anaakolwa omuntu anaamutta.” Awo Eriyaabu muganda we omukulu n'awulira ebigambo Dawudi byeyayogera n'abasajja; Eriyaabu n'asunguwalira Dawudi n'amubuuza nti, “Lwaki ozze wano? Endiga zo entono ozirekedde ani ku ttale? Mmanyi amalala go, n'obubi obuli mu mutima gwo, ozze kulaba lutalo.” Dawudi n'agamba nti, “Nkoze ki kaakano? Nkoze bubi okubuuza?” N'amulekawo n'akyukira omulala n'amubuuza ebigambo bye bimu nga bwe yabuuza olubereberye; abantu ne bamuddamu ebigambo bye bimu nga olubereberye. Abaawulira ebigambo Dawudi bye yayogera, ne babibuulira Sawulo, Sawulo n'amutumya. Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Omuntu yenna aleme okuggwaamu omwoyo ku lwo Mufirisuuti oyo; omuddu wo ajja kugenda alwane naye.” Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Toyinza kwaŋŋaanga kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe.” Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Omuddu wo yalunda endiga za kitaawe; awo bwe wajjanga empologoma oba ddubu n'eggya omwana gw'endiga mu kisibo, nga nfuluma nga ngigoberera nga ngikuba nga ngigusuuza; awo bwe yangolokokerangako ne ngikwata mu malaka ne ngitta. Omuddu wo yakuba empologoma era n'eddubu; n'Omufirisuuti oyo atali mukomole aliba ng'emu ku zo kubanga asomozezza eggye lya Katonda omulamu.” Era Dawudi n'agamba nti, “Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alimponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo.” Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe!” Awo Sawulo n'ayambaza Dawudi ebyambalo bye, n'amutikkira enkuufiira ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'amwambaza ekizibawo eky'ekikomo. Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku byambalo ebyo, n'agezaako okutambula, naye n'atasobola, kubanga yali tabimanyidde. N'agamba Saulo nti, “Sisobola kugendanga nnyambadde bino, kubanga sibimanyidde.” Dawudi n'abyeyambulamu. N'akwata omuggo gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano (5) mu kagga, n'agateeka mu nsawo ye ey'omusumba gye yalina, n'akwata envuumuulo ye; n'asemberera Omufirisuuti. Awo Omufirisuuti n'ajja n'asemberera Dawudi; nga omusajja eyakwatanga engabo ye amukulembedde. Awo Omufirisuuti bwe yalaba Dawudi, n'amunyooma; kubanga yali mulenzirenzi, mumyufu amaaso ge nga malungi. Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti, “Nze ndi mbwa n'okujja n'ojja gye ndi n'emiggo?” Awo Omufirisuuti n'akolimira Dawudi eri bakatonda be. Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti, “Jjangu gye ndi ngabire omubiri gwo ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko.” Awo Dawudi n'agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n'ekitala n'olunyago n'effumu; naye nze njija gy'oli mu linnya lya Mukama ow'eggye, Katonda w'eggye lya Isiraeri, ly'osoomozezza. Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkutemako omutwe gwo; era n'agabira ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mu Isiraeri mulimu Katonda. Era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu; kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe.” Awo olwatuuka Omufirisuuti bwe y'asembera okulwana ne Dawudi, ne Dawudi n'adduka mbiro okutuuka mu ddwaniro okusisinkana Omufirisuuti. Awo Dawudi n'ayingiza engalo ze mu nsawo ye n'aggyamu ejjinja n'alivuumuula n'akuba Omufirisuuti ekyenyi; ejjinja ne liyingira mu kyenyi kye, n'agwa nga yevuunisse. Awo Dawudi n'awangula bw'atyo Omufirisuuti n'envuumuulo n'ejjinja n'amutta; nga talina kitala mu mukono gwe. Awo Dawudi n'adduka mbiro n'ayimirira ku Mufirisuuti, n'asowola ekitala ky'Omufirisuuti mu kiraato kyakyo, n'amutta n'amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng'afudde ne badduka. Awo abasajja ba Isiraeri n'aba Yuda ne bagolokoka ne balekana ne bawondera Abafirisuuti okutuusa e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni, n'Abafirisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Saalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni. Abaana ba Isiraeri ne baleka okuwondera Abafirisuuti ne bakomawo ne banyaga olusiisira lwabwe. Awo Dawudi n'addira omutwe gw'Omufirisuuti n'agutwala e Yerusaalemi; naye n'ateeka eby'okulwanyisa bye mu weema ye. Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulwana n'Omufirisuuti, n'abuuza Abuneeri omukulu w'eggye nti, “Omulenzi oyo mwana w'ani?” Abuneeri n'addamu nti, “Nga ggwe bw'oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.” Kabaka n'ayogera nti, “Buuliriza omanye kitaawe w'omuvubuka oyo bw'ali.” Awo Dawudi bwe yakomawo ng'asse Omufirisuuti, Abuneeri n'amutwala eri Sawulo, ng'akutte omutwe gw'Omufirisuuti mu mukono gwe. Sawulo n'amubuuza nti, “Ggwe oli mwana w'ani, mulenzi ggwe?” Dawudi n'addamu nti, “Nze ndi mwana wa muddu wo Yese Omubesirekemu.” Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, emmeeme ya Yonasaani n'egattibwa n'emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n'amwagala nnyo nga bwe yeeyagala yekka. Sawulo n'amutwala ku lunaku olwo n'atamuganya kuddayo nate eka mu nnyumba ya kitaawe. Awo Yonasaani ne Dawudi ne balagaana endagaano kubanga Yonasaani yamwagala nga bweyeyagala yekka. Yonasaani ne yeeyambulamu omunagiro gwe, gwe yali ayambadde n'aguwa Dawudi, n'ekyambalo kye, era n'ekitala kye n'omutego gwe n'olukoba lwe. Dawudi n'agendanga buli Sawulo gye yamutumanga n'ayisa n'amagezi; Sawulo n'amufuula omukulu w'abasajja abalwanyi, abantu bonna ne bakisiima, era n'abaddu ba Sawulo. Awo abasserikale bwe baali nga badda eka, nga Dawudi akomawo ng'amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isiraeri okusisinkana kabaka Sawulo. Baali bayimba ennyimba ez'essanyu, nga bazina era nga bakuba ebitaasa n'ebivuga. Abakazi ne bayimba nga bagamba nti, “Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe.” Sawulo n'asunguwala nnyo ebigambo ebyo ne bimunyiiza; n'ayogera nti, “Dawudi bamuwadde obukumi, nze bampadde nkumi zokka; kati ekisigadde ki si kumufuula kabaka?” Awo Sawulo n'atunuulira Dawudi n'eriiso ebbi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo ku lunnaku olwaddirira omuzimu omubi ogwava eri Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, n'ayogera ebya Katonda wakati mu nnyumba, Dawudi n'akuba ennanga nga bwe yakolanga bulijjo. Sawulo yalina effumu lye mu ngalo ze. Awo Sawulo n'akasuka effumu ng'ayogera nti, “Kanfumite Dawudi nkwase n'ekisenge.” Dawudi ne yeewoma amafumu ge emirundi ebiri. Awo Sawulo n'atya Dawudi kubanga Mukama yali naye, era ng'avudde ku Sawulo. Sawulo kyeyava amuggya w'ali n'amufuula omukulu w'olukumi (1,000), Dawudi n'abakulemberanga mu ntalo. Dawudi n'ayisa n'amagezi mu makubo ge gonna; era Mukama yali naye. Awo Sawulo bwe yalaba ng'ayisa n'amagezi mangi nnyo, neyeyongera okumutya. Naye Isiraeri yenna ne Yuda ne bagala nnyo Dawudi; kubanga yali mukulembeze mulungi. Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Muwala wange ono omukulu Merabu, nja kumukuwa omuwase, wabula obeerenga muzira olwanenga entalo za Mukama.” Kubanga Sawulo yayogera nti, “Omukono gwange guleme okumubaako, naye omukono gw'Abafirisuuti gumubeeko.” Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Nze ani, n'obulamu bwange ki, oba ennyumba ya kitange mu Isiraeri, nze okuwasa muwala wa kabaka?” Naye ekiseera eky'okuwa Dawudi Merabu muwala wa Sawulo okumuwasa byekyatuuka naatamumuwa, wabula n'amuwa Adulieri Omumekolasi okumuwasa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala Dawudi; ne babuulira Sawulo, ekigambo ekyo n'akisiima. Sawulo n'ayogera nti, “Naamumuwa amuwase abeere ekyambika gy'ali, n'omukono gw'Abafirisuuti gulwane naye.” Awo Sawulo n'agamba Dawudi omulundi ogwokubiri nti, “Ojja kuwasa muwala wange.” Awo Sawulo n'alagira abaddu be nti, “Muteese ne Dawudi mu kyama mumugambe nti, ‘Kabaka akusanyukira n'abaddu be bonna bakwagala; kale nno kaakano wasa muwala wa kabaka.’ ” Awo abaddu ba Sawulo ne bagamba Dawudi ebigambo ebyo. Dawudi n'ababuuza nti, “Mukiyita kigambo kitono okuwasa muwala wa kabaka nze omusajja omwavu era anyoomebwa mu buntu?” Abaddu ba Sawulo ne bamubuulira nga boogera nti, “Bw'atyo, Dawudi bw'ayogedde.” Sawulo n'abagamba nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Kabaka tayagala bya buko byonna, wabula ebikuta ebikomoddwa ku Abafirisuuti kikumi (100), olw'okuwalana eggwanga ku balabe ba kabaka.’ ” Sawulo yalowooza nga Abafirisuuti bajja kutta Dawudi. Awo abaddu be bwe baabuulira Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n'asiima nnyo okuwasa muwala wa kabaka. Awo ennaku nga tezinnaba kuyitawo; Dawudi n'asituka wamu n'abasajja be, n'agenda n'atta ku Bafirisuuti abasajja bibiri (200). Dawudi n'aleeta ebikuta byabwe byonna alyoke awase muwala wa kabaka. Awo Sawulo n'awa Dawudi muwalawe Mikali amuwase. Sawulo n'alaba n'ategeera nga Mukama ali wamu ne Dawudi; ne Mikali muwala wa Sawulo n'ayagala nnyo Dawudi. Awo Sawulo ne yeeyongera nate okutya Dawudi, Sawulo n'aba mulabe wa Dawudi ennaku zonna. Awo abaami b'Abafirisuuti ne balyoka batabaala; awo olwatuuka buli lwe baatabaalanga, Dawudi n'ayisanga n'amagezi n'asinga abaddu ba Sawulo bonna; erinnya lye ne lyatiikirira nnyo. Awo Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we n'abaddu be bonna batte Dawudi. Naye Yonasaani mutabani wa Sawulo yayagalanga nnyo Dawudi. Yonasaani n'abuulira Dawudi nti, “Sawulo kitange ayagala okukutta; kale weekuume, enkya ku makya weekweke mu kifo eky'ekusifu obeere eyo; nange n'afuluma ne nnyimirira kumpi ne kitange mu nnimiro mwewekwese, ne njogera naye ku bigambo ebyo; era bwennabaako kyemanya kyonna nja kubuulira.” Awo Yonasaani n'ayogera ne Sawulo kitaawe ng'atenda Dawudi obulungi n'amugamba nti, “Tokola muddu wo Dawudi kabi konna, kubanga naye takusobyangako ggwe, era ebikolwa bye bibadde birungi nnyo gy'oli; kubanga yawaayo obulamu bwe, n'atta Omufirisuuti, Mukama n'akolera Isiraeri yenna obulokozi obukulu; wabulaba n'osanyuka, kale lwaki oyagala okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, nga otta Dawudi awatali nsonga?” Sawulo n'akkiriza ebigambo bya Yonasaani bye yamugamba; Sawulo n'alayira nti, “Mukama nga bwali omulamu, Dawudi tattibwe.” Yonasaani n'ayita Dawudi, n'amutegeeza ebigambo ebyo byonna. Yonasaani n'atwala Dawudi eri Sawulo, n'abeeranga mu maaso ge ng'olubereberye. Newabaawo olutalo olulala, Dawudi n'alwanyisa Abafirisuuti, n'abattamu abantu bangi n'abasigalawo ne badduka. Awo omuzimu omubi ogwa Mukama gwali ku Sawulo, bwe yali ng'atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu lye; ne Dawudi ng'akuba ennanga. Awo Sawulo n'agezaako okufumita Dawudi, Dawudi n'alyewoma effumu ne likwata n'ekisenge; Dawudi n'adduka n'awona ekiro ekyo. Awo Sawulo n'atuma ababaka mu nnyumba ya Dawudi bamuteege bamutte enkya; Mikali mukazi wa Dawudi n'amulabula nti, “Bw'otoowonye bulamu bwo kiro kino, ojja kuttibwa enkya.” Awo Mikali n'assiza Dawudi mu ddirisa; n'adduka n'awona. Mikali n'addira terafi n'amuteeka mu kitanda, n'addira omutto ogw'ebyoya by'embuzi n'agussa emitwetwe, n'abikkako olugoye. Awo Sawulo bwe yatuma ababaka okukwata Dawudi, Mikali n'abagamba nti “Mulwadde.” Sawulo n'atuma ababaka nate baddeyo okulaba Dawudi ng'abalagidde nti, “Mumusitulire ku kitanda kye mumundeetere mmutte.” Awo ababaka bwe baayingira, laba, nga terafi ali mu kitanda n'omutto ogw'ebyoya by'embuzi nga guli emitwetwe. Sawulo n'abuuza Mikali nti “Onnimbidde ki bw'otyo notolosa omulabe wange n'awona?” Mikali n'addamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Ndeka ŋŋende lwaki nkutta?’ ” Awo Dawudi n'adduka n'awona, n'agenda eri Samwiri e Laama, n'amubuulira byonna Sawulo bye yamukola. Awo Dawudi ne Samwiri ne bagenda ne batuula e Nayosi. Ne babuulira Sawulo nti, “Laba, Dawudi ali e Nayosi mu Laama.” Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi, ababaka bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera ebya Katonda, nga ne Samwiri ye mukulembeze waabwe, awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, nabo ne boogera ebya Katonda. Awo bwe baabuulira Sawulo, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne boogera ebya Katonda. Sawulo n'atuma ababaka nate omulundi ogwokusatu, era nabo ne boogera ebya Katonda. Awo naye n'agenda e Laama, awali oluzzi olunene Seku n'abuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne waba eyamutegeeza nti, “Laba bali e Nayosi mu Laama.” N'agendayo e Nayosi mu Laama; Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye, n'agenda nga ayogera ebya Katonda okutuuka e Nayosi mu Laama. Neyeyambulamu engoye naye n'ayogera ebya Katonda mu maaso ga Samwiri. N'agalamira nga ali bwereere n'azibya obudde era n'abukeesa, olwo abantu kye baava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?” Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayosi mu Laama, n'agenda eri Yonasaani n'amugamba nti, “Nkoze ki? Obutali butuukirivu bwange buliwa? Era kibi ki kye nkoze mu maaso ga kitaawo alyoke anoonye okunzita?” Yonasaani n'amuddamu nti “Kikafuuwe tojja kufa, kubanga kitange tabaako ky'akola oba kikulu oba kitono nga tasoose kumbulirako. Era kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? Si bwe kiri.” Dawudi n'alayira n'agamba nti, “Kitaawo amanyi bulungi ng'onjagala, kyavudde asalawo obutakumanyisa kino ng'agamba nti, ‘Yonasaani kino takimanye, aleme okunakuwala.’ Naye mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, wakati wange n'okufa wasigadde kata buta.” Awo Yonasaani n'alyoka agamba Dawudi nti, “Buli kintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala okukikukolera nzijja kukikukolera.” Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Laba, enkya omwezi gunaaboneka, nange ssaliremye kutuula ne kabaka ng'alya; naye ka ŋŋende nneekweke mu nsiko okutuusa ku lunaku olwokusatu akawungeezi.” Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Kitaawo bw'anaambuuza, onoomugamba nti, ‘Dawudi yansabye nga anneegayirira nnyo muleke agende e Besirekemu mu kibuga ky'ewaabwe kubanga eriyo ssaddaaka eya buli mwaka ey'ennyumba ye yonna.’ Awo bw'anaayogera nti, ‘Kirungi’ omuddu wo anaaba mirembe naye bw'anaasunguwala, onoomanya nga alina akabi kantegekedde. Kale nze omuddu wo nkwatirwa ekisa kubanga twakola endagaano naawe mu maaso ga Mukama; naye oba nga waliwo obutali butuukirivu mu nze, ggwe wennyini nzita kubanga tewali nsonga ekuntwazisa eri kitaawo.” Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Ekyo tokirowooza n'akatono, kubanga mbeera kukimanyako nga kitange alina akabi k'ategese okukukolako, sandikubuulidde?” Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Kitaawo bw'anaaba akuzzeemu n'obukambwe ani anaambuulira?” Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Jjangu tufulume tugende mu nsiko.” Ne bafuluma bombi ne bagenda mu nsiko. Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri, abeere mujulirwa. Enkya mu budde nga buno, oba ku lunaku olunaddirira, nja kukemekkereza kitange. Bwe nnalaba ng'akwogerako bulungi ggwe Dawudi, nja kukutumira nkumanyise. Kitange bw'anaaba ayagala okukulako akabi, ne sikikumanyisa, era na sikutolosa ogende mirembe, nze Yonasaani, Mukama ambonereze n'obukambwe. Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange! Nange bwe n'aba nkyali mulamu onoondaga ekisa kya Mukama nga nkyali mulamu, nneme kufa; so si kukoma ku kw'ekyo kyokka; naye n'ennaku zonna onoolaganga ekisa ennyumba yange; n'okutuusa Mukama nga amaze okumalawo abalabe ba Dawudi bonna ku nsi.” Awo Yonasaani n'alagaana endagaano n'ennyumba ya Dawudi nti, “Era Mukama aligivunaana ku balabe ba Dawudi.” Yonasaani n'alayiza Dawudi nate; kubanga yamwagala nga bwe yeeyagala ye yennyini. Awo Yonasaani n'alyoka amugamba nti, “Enkya omwezi gunaaboneka; era banaakumagamaga, kubanga entebe yo eneeba njereere. Ku lunaku oluddirira olw'enkya ojja kugenda mu kifo gye weekweka ku mulundi guli, obeere eyo, emabega w'ejjinja Ezeri. Nange ndirasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, nga nteeba sabbaawa. Kale, laba, ndituma omwana ne mugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale,’ bwe ndigamba omwana nti, ‘Laba, obusaale buli ku luuyi eno gye ndi;’ kale n'obulonda n'ojja kubanga olwo nga waliwo emirembe gy'oli so tewali kabi, nga Mukama bw'ali omulamu. Naye bwenagamba omwana nti, ‘Obusaale buli eri mu maaso, ng'odduka kubanga nga Mukama anaaba akulagidde okugenda.’ Ku kigambo ekyo kye twogeddeko, nze naawe, Mukama oyo, ye mujulirwa wakati wo nange ennaku zonna.” Awo Dawudi ne yeekweka mu nsiko, omwezi bwe gwaboneka, kabaka n'atuula okulya ku mmere. Kabaka n'atuula ku ntebe ye eriraanye ekisenge nga bulijjo, Yonasaani n'ayimirira. Abuneeri n'atuula okuliraana Sawulo, naye ng'entebe ya Dawudi njereere. Naye Sawulo teyaliiko kye yayogera ku lunaku olwo; kubanga yalowooza nti, “Aliko ky'abadde, si mulongoofu; mu mazima nga si mulongoofu.” Awo olwatuuka ku lunaku olwaddirira ng'omwezi gumaze okuboneka era entebe ya Dawudi n'eba njereere, Sawulo kwe kubuuza mutabani we Yonasaani nti, “Kiki ekirobedde mutabani wa Yese okujja ku mmere jjo ne leero?” Yonasaani n'addamu Sawulo nti, “Dawudi yanneegayirira nnyo mukkirize agende e Besirekemu; ng'ayogera nti, ‘Nkwegayiridde ndeka ŋŋende; kubanga ab'ennyumba yaffe balina okuwaayo ssaddaaka mu kyalo; ne muganda wange yandagira okubaawo. Kale nno oba nga onkwatiddwa ekisa ndeka ŋŋende ne baganda bange.’ Kyavudde alema okujja ku mmeeza ya kabaka.” Awo Sawulo n'asunguwalira Yonasaani n'amugamba nti, “Ggwe omwana w'omukazi omukakanyavu omujeemu, ggwe olowooza simanyi ng'oli ku ludda lwa mutabani wa Yese okweswaza era n'okukwasa nnyoko ensonyi?” “Manya nti mutabani wa Yese ng'akyali mulamu ku nsi, tolibaako w'onyweredde ggwe, wadde obwakabaka bwo. Kale kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.” Yonasaani n'addamu Sawulo kitaawe n'amugamba nti, “Kiki ekimussa? Akoze ki?” Sawulo n'akasuka effumu lye okumufumita; Yonasaani kwe yategeerera kitaawe ng'amaliridde okutta Dawudi. Awo Yonasaani n'asituka ku mmeeza nga asunguwadde nnyo n'atalya ku mmere ku lunaku olw'okuboneka kw'omwezi kubanga yanakuwala olwa kitaawe okuwemukira Dawudi. Awo olwatuuka enkya Yonasaani n'afuluma n'agenda mu nsiko mu kiseera kye yalagaana ne Dawudi, n'omulenzi omuto ng'ali naye. N'agamba omulenzi we nti, “Dduka onoonye obusaale bwe ndasa.” Omulenzi ng'adduka n'alasa akasaale ne kasukka omulenzi ne kaggwa mu maaso ge. Omulenzi bwe yatuuka mu kifo akasaale Yonasaani ke yalasa we kaagwa, Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti, “Akasaale tekali eri mu maaso go?” Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti, “Dduka, yanguwa, tolwawo.” Omulenzi wa Yonasaani n'alonda obusaale, n'akomawo eri mukama we. Naye omulenzi teyaliiko kye yategeera; Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya ekyama. Yonasaani n'akwasa omulenzi oyo eby'okulwanyisa bye, n'amugamba nti, “Bitwale mu kibuga.” Awo omulenzi ng'agenze Dawudi n'ava mu kifo ekyali ku luuyi olw'obukiikaddyo, n'avuunama amaaso ge ku ttaka, n'akutama emirundi esatu (3) ne banywegeragana bombi ne bakaaba nnyo amaziga, naye Dawudi yasingako okukaaba. Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Genda mirembe kubanga tulayidde ffembi mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama anaabanga wakati wange naawe era wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo, ennaku zonna.’ ” Dawudi n'asituka n'agenda ne Yonasaani n'addayo mu kibuga. Awo Dawudi n'atuuka e Nobu eri Akimereki kabona; Akimereki ng'akankana n'ajja okusisinkana Dawudi, n'amubuuza nti, “Lwaki oli wekka, nga toliiko muntu mulala?” Dawudi n'addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka yantuma omulimu n'aŋŋamba nti, ‘Tewaba muntu anaamanya ekigambo kyonna eky'omulimu gwe nkutuma newakubadde bye nkulagidde;’ abalenzi bange mbalagidde tubeeko wetusisinkana. Olinawo ki eky'okulya? Mpaayo emigaati etaano (5), oba ekirala kyonna ekiriwo.” Kabona n'addamu Dawudi nti, “Sirinawo migaati egya bulijjo okuggyako emigaati emitukuvu, abalenzi bo bwe baba nga beekuumye obuteegatta na bakazi.” Dawudi n'addamu kabona nti, “Mazima tetusemberedde mukazi okumala ennaku ssatu okuva lwe n'avaayo. Basajja bange baba batukuvu ne bwe tuba ku lugendo olwa bulijjo. Kati tebasingawo, nga tuli ku lugendo olw'enjawulo?” Awo kabona n'amuwa emigaati emitukuvu; kubanga tewaaliwo mugaati mulala, okuggyako emigaati egy'okulaga, egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, okussaawo emigaati egibuguma ku lunaku giri lwe gyaggirwangawo. Ku lunaku olwo, waaliwo omu ku baweereza ba Sawulo, eyalina ekimusigazizza mu maaso ga Mukama. Erinnya lye yali Dowegi Omwedomu era omukulu w'abasumba ba Sawulo. Awo Dawudi n'agamba Akimereki nti, “Tolinawo wano ffumu oba ekitala? Kubanga saaleeta kitala kyange newakubadde eby'okulwanyisa byange, kubanga omulimu gwa kabaka gwali gwa mangu.” Kabona n'ayogera nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, kyekiriwo, kiri mabega we kkanzu nga kizingiddwa mu kiwero; oba oyagala twala ekyo kubanga tewali kirala.” Dawudi n'addamu nti, “Tewali kikyenkana ekyo; kimpe.” Awo Dawudi n'asituka n'adduka ku lunaku olwo olw'okutya Sawulo, n'agenda eri Akisi kabaka w'e Gaasi. Abaddu ba Akisi ne bamugamba nti, “Dawudi oyo si ye kabaka w'ensi? Si ye ono gwe bayimbanga nga bwe bazina nga bagamba nti,” “ ‘Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi asse emitwalo gye.’ ” Dawudi ne yeeraliikirira olw'ebigambo ebyo, n'atya nnyo Akisi, kabaka w'e Gaasi. Awo n'awaanyisa empisa ze mu maaso gaabwe, ne yeeralusalalusa mu mikono gyabwe, n'ayagulayagula ku nzigi eza wankaaki, n'akulukusa amalusu mu birevu bye. Awo Akisi n'alyoka agamba abaddu be nti, “Abaffe, mulabye omusajja ng'aguddemu eddalu; kale mumuleetedde ki gye ndi? Mbuliddwa abalalu, n'okuleeta ne muleeta olusajja luno okulalukira mu maaso gange? Olusajja luno lunaayingira mu nnyumba yange?” Dawudi n'avaayo, n'addukira mu mpuku ya Adulamu; awo baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna bwe bawulira nga ali eyo ne bagenda gy'ali. Awo buli muntu eyali alaba ennaku na buli muntu eyalina ebbanja na buli eyalina obuyinike, ne bagenda gy'ali; n'afuuka omukulembeze waabwe, bonna abammwe gattako ne bawera abasajja nga bina (400). Awo Dawudi n'avaayo n'agenda e Mizupe ekya Mowaabu; n'agamba kabaka wa Mowaabu nti, “Kiriza kitange ne mmange babeere naawe, okutuusa lwe ndimanya Katonda by'alinkolera.” Awo n'abaleeta eri kabaka wa Mowaabu; ne babeera naye ekiseera kyonna Dawudi kyeyamala ng'ali mu mpuku. Awo nnabbi Gaadi n'agamba Dawudi nti, “Tobeera mu mpuku; vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n'agenda n'abeera mu kibira e Keresi. Awo Sawulo n'awulira nga Dawudi n'abasajja abaali naye baazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w'omumyuliru mu Gibeya eky'omu Laama, ng'akutte effumu lye mu ngalo, n'abaddu be bonna nga bayimiridde okumwetooloola. Sawulo n'agamba abaddu be abaali bayimiridde okumwetooloola nti, “Muwulire nno, mmwe Ababenyamini; mutabani wa Yese aliwa buli omu ku mmwe ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu, n'abafuula abakulu mu maggye abakulira ebibinja by'enkumi oba; kyemuvudde mwekobaana ne mundyamu olukwe, ne wataba n'omu antegezaako nga mutabani wange bw'eyalagaana endagaano ne mutabani wa Yese; tewali n'omu ku mmwe ansaasidde wadde antegeeza nti mutabani wange yapikiriza omuweereza wange okuteega nga bwakoze leero!” Awo Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awali abaddu ba Sawulo, n'alyoka addamu n'ayogera nti, “Nnalaba mutabani wa Yese nga azze e Nobu, eri Akimereki mutabani wa Akituubu. Akimereki n'amubuuliza eri Mukama n'amuwa eby'okulya n'amuwa ekitala ekyali ekya Goliyaasi Omufirisuuti.” Awo kabaka n'alyoka atuumya Akimereki kitaawe ne bakabona, mutabani wa Akitubu, n'ennyumba yonna eya kitaawe, bakabona abaali e Nobu; ne bajja bonna eri kabaka. Sawulo n'ayogera nti, “Wulira nno, ggwe mutabani wa Akitubu.” N'addamu nti, “Nze nzuuno, mukama wange.” Sawulo n'amugamba nti, “Mwanneekobaanira ki ggwe ne mutabani wa Yese, kubanga wamuwa emigaati n'ekitala, n'omubuuliza neri Katonda, ankyukire okunteega nga bwakoze leero?” Awo Akimereki n'addamu kabaka n'ayogera nti, “Era ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi obwesigwa? Ye mukoddomi wo, era ye muduumizi ow'ekibinja ky'abakuumi bo era ow'ekitiibwa mu lubiri lwo. Nsoose leero okumubuuliza eri Katonda? Kiddire eri! kabaka aleme okussaako omuddu we ekigambo kyonna, newakubadde ennyumba ya kitange yonna; kubanga omuddu wo taliiko ky'amanyi ku bino byonna, newakubadde ebitono newakubadde ebingi.” Kabaka n'ayogera nti, “Tooleme kufa, Akimereki, ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna.” Awo kabaka n'agamba abambowa abaali bayimiridde okumwetooloola nti, “Mukyuke mutte bakabona ba Mukama; kubanga n'omukono gwabwe guli ne Dawudi, era kubanga baamanya nga yadduka, ne batakimbikkulira.” Naye abaddu ba kabaka ne bagaana okussaawo omukono gwabwe okugwa ku bakabona ba Mukama. Awo kabaka n'agamba Dowegi nti, “Kyuka otte bakabona.” Awo Dowegi Omwedomu n'akyuka n'atta ku lunaku olwo bakabona kinaana mu bataano (85), abaayambalanga ekkanzu eza bafuta. Sawulo n'alagira okutta abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, ente, endogoyi n'endiga eby'omu kibuga kya bakabona ekya Nobu. Awo omwana omu owa Akimereki, mutabani wa Akitubu, erinnya lye Abiyasaali, n'awona n'adduka ne yeegatta ku Dawudi. Abiyasaali n'abuulira Dawudi nga Sawulo bw'asse bakabona ba Mukama. Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali nti, “Naamanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliyo, nga talirema kumubuulira Sawulo;” nze nnassa abantu bonna ab'omu nnyumba ya kitaawo. Ggwe beera nange, totya; kubanga oyo anoonya obulamu bwange anoonya obulamu bwo; naye ggwe beera nange ojja kuba mirembe. Awo ne babuulira Dawudi nti, “Abafirisuuti balwanyisa abe Keyira era banyaga amawuuliro.” Dawudi kyeyava abuuza Mukama nti, “ Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti abo?” Mukama n'agamba Dawudi nti, “Genda olumbe Abafirisuuti owonye ekibuga Keyira.” Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Oba nga na wano mu Yuda tuli mu kutya, kale kinaaba kitya bwe tunaagenda n'e Keyira okulwanyisa eggye ly'Abafirisuuti?” Awo Dawudi n'alyoka abuuza Mukama omulundi ogwokubiri. Mukama n'amuddamu nti, “Situka ogende e Keyira; kubanga ndigabula Abafirisuuti mu mukono gwo.” Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Keyira, ne balwana n'Abafirisuuti, ne babatta olutta olunene, ne banyaga ente zaabwe. Awo Dawudi n'awonya abantu be Keyira. Awo olwatuuka, Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yadduka okwegatta ku Dawudi e Keyira, yagenda ne kkanzu ey'obwakabona. Ne babuulira Sawulo nga Dawudi atuuse e Keyira. Sawulo n'ayogera nti, “Katonda amugabudde mu mukono gwange; kubanga aggaliddwa munda mu kibuga ekirina enzigi n'ebisiba.” Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okutabaala, bagenda e Keyira, okuzingiza Dawudi n'abasajja be. Awo Dawudi bw'eyategeera nti Sawulo ayagala kumutta; n'agamba Abiyasaali kabona nti, “Leeta wano ekkanzu ey'obwakabona.” Awo Dawudi n'ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, omuddu wo awuliridde ddala nga Sawulo ayagala okujja e Keyira, okuzikiriza ekibuga ku lwange. Abasajja ab'e Keyira balimpaayo mu mukono gwe? Sawulo aliserengeta, ng'omuddu wo bw'awulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, nkwegayiridde, buulira omuddu wo.” Mukama n'ayogera nti, “Aliserengeta.” Awo Dawudi n'alyoka n'abuuza nti, “Abasajja ab'e Keyira balimpaayo nze n'abasajja bange mu mukono gwa Sawulo?” Mukama n'addamu nti, “Balikuwaayo.” Awo Dawudi n'abasajja be, abaali nga lukaaga (600) ne badduka ne basaasaana. Ne babuulira Sawulo nti Dawudi adduse okuva e Keyira: Sawulo eby'okulumba ekibuga naabivako. Awo Dawudi ne yeekweka aw'ekusifu mu nsi ey'ensozi mu ddungu ery'e Zifu. Sawulo n'amunoonyanga buli lunaku, naye Katonda n'atamugabula mu mukono gwe. Dawudi naamanya nga Sawulo amunoonya okumutta, mu kiseera ekyo Dawudi yali yeekwese mu ddungu lye Zifu mu lukoola. Yonasaani mutabani wa Sawulo n'asituka n'agenda Dawudi gye yali, mu lukoola, n'amugumya nti, Katonda taaleme kumukuuma. N'amugamba nti, “Totya, Sawulo kitange tajja kusobola kukukolako kabi. Gwe oliba kabaka wa Isiraeri, nze nenkuddirira mu bukulu; ekyo ne Sawulo kitange akimanyi.” Awo abo bombi ne balagaanira endagaano mu maaso ga Mukama; Dawudi n'abeera mu lukoola, Yonasaani n'addayo mu nnyumba ye. Awo ab'e Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibeya, ne bagamba nti, “Dawudi yeekwese ewaffe mu mpuku, mu kibira ku lusozi Kakira oluli ku ludda olw'ebukiikaddyo olw'eddungu ly'e Yuda? Kale nno kaakano ayi kabaka nga bwoyagala ennyo okumukwata, jjangu ffe tujja kumuwaayo gy'oli.” Sawulo n'ayogera nti, “Muweebwe Mukama omukisa; kubanga munsaasidde. Mugende, mbeegayiridde, mweyongere okwetegereza, mumanye mulabe ekifo kye w'abeera n'eyamulabayo, kubanga bambuulira nti alina obugerengetanya bungi nnyo. Kale mugende, muzige ebifo byonna mw'ateegera mwe yeekweka, mukomewo gye ndi so temulema kudda, olwo ndigenda nammwe; bwaliba nga ali mu kitundu ekyo ndimunoonya mu nkumi ne nkumi zonna eza Yuda ne mulaba.” Awo ne bakulembera Sawulo okugenda e Zifu, naye Dawudi n'abasajja be baali mu ddungu ery'e Mawoni, mu Alaba ku luuyi olw'eddungu olw'obukiikaddyo. Sawulo n'abasajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi; kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ery'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'agoberera Dawudi mu ddungu ery'e Mawoni. Sawulo n'agenda ku ludda olumu olw'olusozi, nga Dawudi ne basajja be bali ku ludda olulala. Awo Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okwewala Sawulo, kubanga Sawulo ne basajja be baali bazingizizza Dawudi ne basajja be enjuyi zonna okubakwata. Naye ne wajja omubaka eri Sawulo, n'agamba nti, “Yanguwa ojje, kubanga Abafirisuuti balumbye ensi yo.” Awo Sawulo n'alekayo okugoberera Dawudi n'addayo, n'atabaala Abafirisuuti; ekifo ekyo kyebaava bakiyita Serakammalekosi. Awo Dawudi n'avaayo n'agenda ne yeekweka mu bigo ebya Engedi. Awo olwatuuka Sawulo bwe yakomawo ng'amaze okuwondera Abafirisuuti, ne bamubuulira nti, “Laba, Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.” Awo Sawulo n'alonda abasajja enkumi ssatu (3,000) abaalondebwa mu Isiraeri yenna, n'agenda okunoonya Dawudi n'abasajja be ku njazi ez'embulabuzi. Awo Sawulo n'atuuka ku mpuku eri okumpi n'ebisibo by'endiga, ku kkubo, n'ayingira omwo okweyamba. Dawudi ne basajja be, baali batudde mu bifo eby'omunda ddala mu mpuku eyo. Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yakugambako nti, ‘aligabula omulabe wo mu mukono gwo, era olimukola nga bw'oyagala.’ ” Awo Dawudi n'agolokoka n'asala ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo mu kyama. Naye oluvannyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasala ku kirenge kya Sawulo. Dawudi n'agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe nze okukola akabi konna ku mukama wange, Mukama gwe yafukako amafuta, okumugololera omukono gwange kubanga oyo Mukama gwe yafukako amafuta.” Awo Dawudi n'aziyiza abasajja be n'ebigambo ebyo, n'atabaganya kukola kabi konna ku Sawulo. Awo Sawulo n'agolokoka n'ava mu mpuku n'agenda. Oluvannyuma ne Dawudi n'asituka n'ava mu mpuku n'akoowoola Sawulo ng'agamba nti, “ Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo bwe yakebuka, Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'agamba Sawulo nti, “Kiki ekiwulizisa ebigambo by'abantu nga boogera nti, ‘Laba, Dawudi ayagala okukukolako akabi?’ Laba Mukama bw'abadde akugabudde mu mukono gwange leero nga oli mu mpuku: era wabaddewo abaŋŋambye okukutta: naye nze ne nkusaasira; ne ŋŋamba nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange; kubanga oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ Era, kitange, laba ekirenge ky'ensanze ku kyambalo kyo kikiino mu ngalo zange; kale oba nga nsaze ku kyambalo ne sikutta, tegeera nga tewali kabi kenjagala ku kukola, so ssi kusobyanga newakubadde nga ggwe onjigganya okunzita. Mukama asale omusango wakati wo nange. Mukama ye aba awooleera eggwanga olw'ebyo by'onkola, naye nze sigenda kukukolako kabi konna. Ng'olugero olw'ab'edda bwe lugamba nti, ‘Mu babi mwe muva obubi,’ naye nze sigenda kukukolako kabi konna. Kabaka wa Isiraeri alumba ani? Awondera ani? Ogoberera embwa enfu, enkukunyi! Kale Mukama abe omulamuzi waffe, asale omusango wakati wange naawe, atunule mu nsonga yange andokole mu mukono gwo.” Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'ayogera nti, “Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Sawulo n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba amaziga. N'agamba Dawudi nti, “Ggwe onsinga obutuukirivu; kubanga onsasudde obulungi, naye nze nkusasudde obubi. Era oyatudde leero bw'onkoze obulungi, kubanga Mukama angabudde mu mukono gwo n'otonzita. Kubanga omuntu bw'asanga omulabe we, amuleka n'agenda nga mulamu? Kale Mukama akuwe empeera ennungi olw'ekyo ky'onkoze leero. Mmanyi nga tolirema kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Isiraeri bulinywezebwa mu mukono gwo. Kale nno kaakano ndayirira Mukama nga tolizikiriza zzadde lyange nga nvuddewo, era nga tolisanyawo linnya lyange ne rye nnyumba ya kitange.” Dawudi n'alayirira Sawulo. Sawulo n'addayo ewuwe ne Dawudi ne basajja be ne baddayo mu mpuku. Awo Samwiri n'afa; Abaisiraeri bonna ne bakuŋŋaana ne bamukaabira, ne bamuziika mu nnyumba ye e Laama. Dawudi n'asituka n'aserengeta mu ddungu lya Palani. Awo yaliyo omusajja e Mawoni nga eby'obugagga bwe biri e Kalumeeri; omusajja oyo yali mugagga nnyo, yalina endiga enkumi ssatu (3,000) n'embuzi lukumi (1,000), yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Kalumeeri. Erinnya ly'omusajja oyo nga ye Nabali; n'erya mukazi we nga ye Abbigayiri, Omukazi yali mutegeevu era nga mulungi mu ndabika ye. Naye bba, eyali ow'omu nnyumba ya Kalebu ye yali wa kkabyo, era nga mubi mu bikolwa bye. Awo Dawudi bwe yali mu ddungu n'awulira nga Nabali yali asala ebyoya by'endiga ze. Awo Dawudi n'atuma abalenzi kkumi (10), n'abagamba nti, “Mugende e Kalumeeri eri Nabali mumunnamusize, era mukumulamusa mumuŋŋambire nti, ‘Emirembe gibeere gy'oli, ne ku nnyumba yo, era ne ku byonna by'olina. Mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga; abasumba bo balinga naffe era tetwabakola kabi konna, so tewaali yabulwako kintu kyonna, ebiseera byonna bye bamala e Kalumeeri. Buuza abalenzi bo, banaakubuulira, kale abalenzi bange balabe ekisa mu maaso go; kubanga tujjidde ku lunaku olw'embaga; waayo nkwegayiridde waayo kyonna kyonoosobola eri abaddu bo n'eri mutabani wo Dawudi.’ ” Awo abalenzi ba Dawudi bwe batuuka ne bategeeza Nabali ebigambo byonna Dawudi byeyabatuma, ne basirika. Awo Nabali n'addamu abaddu ba Dawudi ng'agamba nti, “Dawudi ye ani? Ne mutabani wa Yese ye ani? Mu biro bino waliwo abaddu bangi abajeemera bakama babwe. Kale nno ntole emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama yange gye nzitidde abasajja bange abasala ebyoya, mbiwe abasajja be ssimanyiiko gye bavudde?” Awo abalenzi ba Dawudi ne bakyuka ne bakwata ekkubo ne baddayo ne bamubuulira ebigambo ebyo byonna nga bwe bibadde. Awo Dawudi n'agamba abasajja be nti Mwesibe buli muntu ekitala kye. Ne beesiba buli muntu ekitala kye; ne Dawudi naye ne yeesiba ekitala kye: ne wayambuka okugoberera Dawudi abasajja nga bina (400) ne bagoberera Dawudi; ebibiri (200) ne basigala ku bintu. Naye omu ku balenzi n'abuulira Abbigayiri mukazi wa Nabali ng'ayogera nti, “Laba, Dawudi yatuma ababaka ng'ayima mu ddungu okulamusa mukama waffe; naye ye n'abavuma. Naye abasajja abo baatukolanga bulungi nnyo, so tetukolwanga bubi, so tetubulwanga kintu kyonna ebbanga lyonna lye twabeera nabo mu nsiko; baabanga bbugwe gyetuli emisana n'ekiro ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga. Kale nno kaakano tegeera, olowooze ky'onookola; kubanga abantu bali bamaliridde okukola mukama waffe ne nnyumba ye yonna akabi, kubanga omuntu owe kkabyo bwatyo nga mukama waffe, tayinza kuwuliriza muntu yenna.” Awo Abbigayiri n'alyoka ayanguwa n'addira emigaati bibiri (200), n'ensawo bbiri (2), ez'amaliba ez'omwenge n'endiga ttaano (5) enfumbire ddala, n'ebigero bitaano (5), eby'eŋŋaano ensiike, n'ebirimba kikumi (100) eby'ezabbibu enkalu, n'ebitole bibiri (200) eby'ettiini, n'abitikka endogoyi. Abbigayiri n'agamba abalenzi be nti, “Munkulembere mugende; nange kambagoberere.” Naye n'atabuulirako bba Nabali. Awo Abbigayiri bwe yali nga yeebagadde endogoyi, aserengeta ng'aweta ku nsonda y'olusozi, amangwago Dawudi ne basajja be ne baserengeta okumwolekera, n'asisinkana nabo. Era Dawudi yali ayogedde nti, “Mazima nnakuumira bwereere ebintu byonna olusajja luno bye lulina mu ddungu, ne watabula kintu kyonna, kyokka kati mu bulungi lunsasuddemu obubi. Nze Dawudi, Mukama ambonereze n'obukambwe, singa we bunaakeerera, nnaaba ndeseewo omusajja, wadde omwana ow'obulenzi mu bantu be bonna b'alina.” Awo Abbigayiri bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi ye n'avuunama mu maaso ga Dawudi, n'akutama okutukira ddala ku ttaka. N'agwa ku bigere bye n'ayogera nti, “Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze, kkiriza muzaana wo ayogere gyoli, nkwegayiridde owulirize ebigambo by'omuzaana wo. Nkwegayiridde mukama wange, tofa ku Nabali omuntu omubi, kubanga ng'erinnya lye bwe liri, naye bw'ali. Nga bw'ayitibwa Nabali, era ddala musiru. Naye nze omuweereza wo, saalaba balenzi ggwe mukama wange be watuma. Kale nno kaakano, mukama wange, nga Mukama bw'ali omulamu naawe nga bw'oli omulamu, kubanga Mukama akuziyizza okuyiwa omusaayi olwo kuwoolera eggwanga, kale nno abalabe bo n'abo abagala okukolako akabi mukama wange babonerezebwe nga Nabali. Kale nno ekirabo kino omuzaana wo ky'akuleetedde kiweebwe abalenzi abakugoberera mukama wange. Nkwegayiridde, sonyiwa ekyonoono ky'omuzaana wo; kubanga Mukama talirema kukolera nnyumba ey'enkalakkalira, kubanga Mukama wange alwana entalo za Mukama; so n'akabi tekalirabika ku ggwe ennaku zo zonna. Era singa abantu bagolokoka okukuyigganya n'okwagala okukutta, obulamu bwa mukama wange bulisibirwa mu muganda gw'obulamu wamu ne Mukama Katonda wo; era obulamu bw'abalabe bo alibukasuka wala ng'envuumuulo bwe kasuka amayinja. Awo olulituuka Mukama bw'aliba ng'atuukiriza byonna ebirungi byeyayogera ku mukama wange, era nga akutaddewo okuba omukulu wa Isiraeri; kale mukama wange, tolibaako kikweraliikiriza wadde kikulumya mwoyo, olw'okuyiwa omusaayi awatali nsonga, oba mukama wange, olw'okuwoolera eggwanga. Era mukama wange, Mukama bw'aliba ng'akuwadde omukisa, kale onzijukiranga nze omuzaana wo.” Era Dawudi n'agamba Abbigayiri nti, “Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange; era gatenderezebwe n'amagezi go, naawe otenderezebwe anziyiza leero okuyiwa omusaayi n'obuteewalanira ggwanga n'omukono gwange. Kubanga mazima ddala, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bw'ali omulamu, anziyizza okukola obubi, singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange webwandikeredde wandibadde tewasigadde musajja wadde omwana ow'obulenzi mu bantu ba Nabali.” Awo Dawudi n'akkiriza Abbigayiri by'amuleetedde, n'amugamba nti, “Ddayo mirembe mu nnyumba yo. Mpulidde by'oŋŋambye, era mbikkirizza.” Awo Abbigayiri n'addayo eri Nabali; Nabali yali afumbye embaga mu nnyumba ye, eyali nga eya kabaka. Yali ng'atamidde nnyo era nga musanyufu, Abbigayiri kyeyava tabaako ky'amubuulira okutuusa enkeera. Awo olwatuuka enkya, Nabali omwenge bwe gwali gumuweddeko, Abbigayiri n'amubuulira ebigambo byonna, omutima gwe ne gutyemuka munda ye n'akalambala ng'ejjinja. Ennaku nga ziyiseewo nga kkumi (10), Mukama n'akuba Nabali; Nabali n'afa Dawudi bwe yawulira nga Nabali afudde, n'agamba nti, “Mukama atenderezebwe, awooledde eggwanga ku Nabali eyanvuma, era aziyizza nze omuweereza we okukola ekibi. Mukama abonerezza Nabali olw'ekibi kye.” Awo Dawudi n'atumira Abbigayiri ng'amusaba amuwase. Awo abaddu ba Dawudi bwe baatuuka eri Abbigayiri e Kalumeeri, ne bamugamba nti, “Dawudi yatutumye gy'oli ng'ayagala okukuwasa.” Awo Abbigayiri n'asituka n'avuunama ku ttaka, n'agamba nti, “Nzuuno omuzaana wo, nneetegese okunaazanga ebigere by'abaweereza ba mukama wange.” Awo Abbigayiri n'ayanguwa n'asituka ne yeebagala endogoyi wamu ne bawala be bataano (5) abaamuweerezanga; n'agoberera ababaka Dawudi be yatuma, n'aba mukazi we. Dawudi n'awasa ne Akinoamu ow'e Yezuleeri; bombi ne baba bakazi be. Sawulo yali agabye muwala we Mikali, eyali muka Dawudi, ng'amuwadde Paluti mutabani wa Layisi, ow'e Galimu. Awo abantu be Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya ne bamugamba nti, “Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira oluli ku njegoyego ze ddungu lye Buyudaaya?” Awo Sawulo n'asituka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde mu Isiraeri enkumi ssatu (3,000), okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu. Sawulo n'asiisira ku mabbali g'ekkubo ku lusozi Kakira, oluli ku njegoyego z'eddungu ly'e Buyudaaya. Ye Dawudi yali mu ddungu naamanya nga Sawulo atuuse mu ddungu okumunoonya. Dawudi kyeyava atuma abakessi n'ategeera nga Sawulo atuukidde ddala. Awo Dawudi n'asituka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N'alaba Sawulo we yeebase, wamu ne Abuneeri mutabani wa Neeri, era omukulu w'eggye lya Sawulo. Sawulo yali agalamidde munda mu lusiisira, nga basajja be basiisidde okumwetooloola. Awo Dawudi n'abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu nti, “Ani anaaserengeta nange okugenda eri Sawulo mu lusiisira?” Abisaayi n'addamu nti, “Nze n'agenda naawe.” Ekiro Dawudi ne Abisaayi ne bayingira mu lusiisira lwa Sawulo, ne basanga Sawulo ng'agalamidde, yeebase munda mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa emitwetwe we; Abuneeri n'ab'eggye baali beebase okwetooloola Sawulo. Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti, “Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero; kale nno, nkwegayiridde, kamufumite effumu omulundi gumu, limuyitemu likwatte ne ttaka, simuzzeko lyakubiri.” Dawudi n'addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza; kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta n'atabako musango?” Dawudi n'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ye alimutta; oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo n'azikiririra eyo. Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta; naye nno twala, nkwegayiridde, effumu eriri ku mutwe gwe n'ensumbi y'amazzi tugende.” Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya okumpi n'omutwe gwa Sawulo; ne bagenda, so tewali muntu eyakiraba newakubadde eyakimanya, so era tewali eyazuukuka; kubanga bonna baali beebase; Mukama yali abeebasiza otulo otungi. Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira ku ntikko y'olusozi; nga abeesuddeko ebbanga ddene: Dawudi n'alangiriza abantu ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng'agamba nti, “Owange Abuneeri toddamu?” Awo Abuneeri n'addamu n'abuuza nti, “Ani oyo akoowoola kabaka?” Dawudi n'agamba Abuneeri nti, “Toli muzira? Era ani akwenkana mu Isiraeri? Kale kiki ekikulobedde okukuuma mukama wo kabaka? Kubanga waliwo omuntu ayingidde gye muli okuzikiriza kabaka mukama wo. Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe.” Sawulo n'ategeera nga eryo ly'eddoboozi lya Dawudi, awo n'abuuza nti, “Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Dawudi n'addamu nti, “Lye ddoboozi lyange, mukama wange, ayi kabaka.” Dawudi n'ayogera nti, “ Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? Nkoze ki? Oba nzizizza musango ki? Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama bwaba nga ye yakulagira okunjiganya, akkirize muwe ekiweebwayo; naye bwe baba nga bantu buntu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga abantu bangobye leero okuva mu nsi ya Mukama ey'obusika bwaffe nga bagamba nti, ‘ Genda oweereze bakatonda abalala.’ Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiika mu nsi eteri ya Mukama; kubanga kabaka wa Isiraeri asituse okunoonya nze enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi.” Awo Sawulo n'ayogera nti, “Nnyonoonye; komawo, mwana wange Dawudi, kubanga siryeyongera ku kukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nnasiruwala ne nkyama nnyo nnyini.” Dawudi n'addamu n'agamba nti, “Effumu lyo lirino, ayi kabaka! tuma omu ku balenzi bo aliddukire. Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe, kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta. Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, n'obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, andokole mu kulaba ennaku kwonna.” Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Oweebwe omukisa, mwana wange Dawudi; olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula.” Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo ewuwe. Awo Dawudi n'ayogera mu mwoyo gwe nti, “Luliba lumu ne nzikirira olw'omukono gwa Sawulo; ekisinga obulungi ka nziruke ŋŋende mu nsi y'Abafirisuuti; Sawulo bwaliba takyandaba mu nsi ya Isiraeri; alinzigyako omwoyo n'alekerawo okunoonya, bwe ntyo bwe ndiwona mu mukono gwa Sawulo.” Dawudi n'asituka n'abasajja olukaaga (600) n'agenda n'asenga Akisi kabaka w'e Gaasi mutabani wa Mawoki. Dawudi n'atuula ne Akisi e Gaasi, ye n'abasajja be, buli muntu n'ab'omu nnyumba ye. Dawudi yali ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, mukazi wa Nabali. Ne babuulira Sawulo nga Dawudi yaddukira e Gaasi, n'atamunoonya nate. Awo Dawudi n'agamba Akisi nti, “Oba nga nno ŋŋanze mu maaso go, bampe ekifo mu mbuga emu mu byalo ntuule eyo; kubanga kiki ekinaaba kituuza omuddu wo mu kibuga naawe mwoli.” Awo Akisi n'amuwa Zikulagi ku lunaku olwo; Zikulagi kyekyava kibeera ekibuga kya bakabaka ba Yuda na kaakati. Awo Dawudi nnamala mu nsi y'Abafirisuuti omwaka mulamba ko emyezi ena. Dawudi n'abasajja be ne bambuka ne bakwekweta Abagesuli n'Abagiruzi n'Abamaleki; ababeeranga edda mu kitundu ekyo, okuva e Ssuuli okutuuka e Misiri. Dawudi n'atta abantu obutalekawo musajja newakubadde omukazi, n'anyaga endiga, ente, endogoyi, eŋŋamira n'ebyambalo; n'akomawo eri Akisi. Awo Akisi n'abuuza Dawudi nti, “Mukwekweese wa leero?” Dawudi n'addamu nti, “Mu bukiikaddyo obwa Yuda n'obukiikaddyo obw'Abayerameeri n'obukiikaddyo obw'Abakeeni.” Dawudi n'atawonya musajja newakubadde omukazi okubaleeta e Gaasi, sikulwa nga bamuloopa eri kabaka Akisi nti, “Bw'atyo bw'akola era bwayisa kasookedde atuula mu nsi y'Abafirisuuti.” Awo Akisi n'eyesiga Dawudi ng'alowooza nti, “Dawudi atamiriddwa ddala abantu be Abaisiraeri; kyanaava abeera omuddu wange ennaku zonna.” Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana ne Isiraeri. Akisi n'agamba Dawudi nti, “Tegeerera ddala ggwe ne basajja nti munagenda nange mu lutalo.” Dawudi n'agamba Akisi nti, “Onootegeerera ddala omuddu wo kyanaakola.” Akisi n'agamba Dawudi nti, “Kyennava nkufuula omukuumi wange ennaku zonna.” Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali agobye mu nsi ye abo bonna abaaliko emizimu n'abalaguzi. Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana ne bajja ne basiisira e Sunemu; ne Sawulo n'akuŋŋaanya Isiraeri yonna ne basiisira ku Girubowa. Awo Sawulo bwe yalaba eggye ly'Abafirisuuti, n'atya, omwoyo gwe ne gukankana nnyo. Awo Sawulo bwe yabuuza Mukama, Mukama n'atamwanukula newakubadde mu birooto newakubadde mu Ulimu newakubadde mu bannabbi. Awo Sawulo n'alyoka agamba abaddu be nti, “Munnoonyeze omukazi aliko omuzimu ŋŋende gy'ali mubuuze.” Abaddu be ne bamugamba nti, “Laba, waliwo omukazi aliko omuzimu e Endoli.” Sawulo ne yeefuula n'ayambala ebyambalo ebirala n'agenda wamu ne basajja babiri, eri omukazi oyo ekiro. Sawulo n'amugamba nti, “Nkwegayiridde ndagula nga weebuuza ku mizimu era onyimusize omuzimu gw'omuntu oyo gwe n'ayogera erinnya.” Awo omukazi n'amugamba nti, “Laba, omanyi Sawulo bye yakola, bwe yazikiriza mu nsi abo abaliko emizimu n'abalaguzi; lwaki ontega ekyambika okunzisa?” Sawulo n'alayirira Mukama ng'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, tewali kabi konna kaalikutukako olw'ekigambo kino.” Awo omukazi n'amugamba nti, “Oyagala nkuyimusiize ani?” Sawulo n'amugamba nti, “Nyimusizza Samwiri.” Awo omukazi bwe yalaba Samwiri, n'akaaba n'eddoboozi ddene; omukazi n'agamba Sawulo nti, “Onnimbidde ki? Kubanga ggwe Sawulo.” Kabaka n'amugamba nti, “Totya; naye olaba ki?” Omukazi n'agamba Sawulo nti, “Ndaba katonda ng'ava mu ttaka ng'ayambuka.” Sawulo n'amubuuza nti, “Afaanana atya?” Omukazi n'addamu nti, “Omukadde ayambuka era nga yeesulidde omunagiro.” Sawulo n'ategeera nga ye Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Lwaki ongolokosezza okuva emagombe?” Sawulo n'addamu nti, “ Nneeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto; kyenvudde nkuyita ontegeeze bwe mba nkola.” Awo Samwiri n'ayogera nti, “Ombuuliza ki nze nno, nga Mukama ng'akuvuddeko era ng'afuuse mulabe wo? Mukama akoze kye yakugamba ng'ayita mu nze; okukuggyako obwakabaka bwo nabuuwa muliraanwa wo Dawudi. Kubanga tewagondera ddoboozi lya Mukama n'ototuukiriza kiruyi kye ekingi ku Amaleki, Mukama kyavudde akukola ekigambo kino leero. Era nate Mukama anaagabula Isiraeri wamu naawe mu mukono gw'Abafirisuuti; era enkya ggwe ne batabani bo banaaba nange. Mukama anaagabula n'eggye lya Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.” Awo Sawulo n'alyoka agwa ku ttaka ng'alambadde, n'atya nnyo, olw'ebigambo bya Samwiri; naggweeramu ddala amaanyi kubanga yali talina kyalidde ku lunnaku olwo emisana n'ekiro. Omukazi n'asembera awali Sawulo, n'alaba nga Sawulo atidde nnyo. N'amugamba nti, “Nze omuzaana wo, nnawulidde ky'oŋŋamba ne nneewaayo, ne nkukolera kye wansabye. Kale kaakano nkwegayiridde, naawe okole kye nkusaba. Kkiriza era nteeke akamere mu maaso go, olye lw'onoofuna amaanyi ag'okutambula ogende.” Sawulo n'addamu nti, “Sijja kulya.” Naye abaddu be awamu n'omukazi ne bamuwaliriza; n'awulira eddoboozi lyabwe. Awo n'agolokoka okuva wansi n'atuula ku kitanda. Era omukazi yalina ennyana eya ssava mu nnyumba; n'ayanguwa n'agitta; n'addira obutta n'abugoya n'abwokya okuba omugaati ogutazimbulukuswa, n'aguleeta mu maaso ga Sawulo ne mu maaso g'abaddu be; ne balya. Awo ne basituka ne baddayo ekiro ekyo. Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna ku Afeki; Abaisiraeri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri. Awo abaami b'Abafirisuuti ne bayitawo ebikumi n'ebikumi n'enkumi n'enkumi; Dawudi ne basajja be wamu ne Akisi nabo ne bayitawo nga be basembyeyo. Awo abakulu b'Abafirisuuti ne boogera nti, “Abaebbulaniya bakola ki wano?” Akisi n'agamba abakulu b'Abafirisuuti nti, “Ono Dawudi omuddu wa Sawulo kabaka wa Isiraeri, yaakamala nange ennaku nnyingi; naye sirabanga kabi ku ye kasookedde asenga okutuusa leero.” Naye abaduumizi b'Abafirisuuti ne basunguwalira Akisi, ne bamugamba nti, “Lagira omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa, aleme kugenda naffe mu lutalo, sikulwa ng'atuuka mu lutalo n'afuuka omulabe waffe. Ogamba omusajja ono tajja kutabagana ne mukama we aweeyo emitwe gy'abasajja baffe? Ono si ye Dawudi gwe baayimbiraganako nga bazina, nga boogera nti,” “ ‘Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi emitwalo gye?’ ” Awo Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, wabanga mugolokofu, n'okufuluma kwo n'okuyingira awamu nange mu ggye kulungi mu maaso gange; kubanga sirabanga kabi ku ggwe okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi ne leero, naye abaami tebakwagala. Kale nno kaakati ddayo genda mirembe oleme okunyiiza abaami b'Abafirisuuti.” Dawudi n'agamba Akisi nti, “Naye nkoze ki? Oba kiki ky'olabye ku muddu wo ebiro byonna bye nnaakamala nga ndi mu maaso go okutuusa leero, kiki ekindobera okugenda ne nnwana n'abalabe ba mukama wange kabaka?” Akisi n'addamu n'agamba Dawudi nti, “Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda; naye abaami b'Abafirisuuti boogedde nti, ‘Tajja kwambuka naffe mu lutalo.’ Kale nno situka enkya mu makya wamu n'abaddu ba mukama wo abajja naawe; awo amangu ago nga mugolokose enkya mu makya, obudde nga bukedde, mugende.” Awo Dawudi n'agolokoka mu makya, ye n'abasajja be, ne baddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bambuka e Yezuleeri. Awo olwatuuka, Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka e Zikulagi ku lunaku olwokusatu, Abamaleki baali bamaze okukwekweta obukiikaddyo ne Zikulagi, era nga bamaze okuwangula Zikulagi n'okukyokya omuliro; era nga banyaze abakazi ne bonna abaali omwo, abato era n'abakulu; tebatta n'omu, naye baabanyaga ne babatwala ne bagenda. Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze. Awo Dawudi n'abantu abaali naye ne balyoka bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba. Ne bakazi ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri, baali babanyaze. Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be, naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we. Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti, “Nkwegayiridde ndeetera wano ekkanzu ey'obwakabona.” Abiyasaali n'aleetera Dawudi ekkanzu ey'obwakabona. Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti, “Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibatuukako?” N'amuddamu nti, “Goberera; kubanga tolirema kubatuukako, era tolirema kubibasuuza byonna.” Naye Dawudi n'agenda n'abasajja be olukaaga (600), bwe batuuka ku kagga Besoli, abamu ne basigala awo. Naye Dawudi ne basajja be bina (400) ne beyongerayo; kubanga abalala ebibiri (200) baali baakoye nnyo, ne batasobola nakusomoka kagga Besoli. Abasajja abaali ne Dawudi ne basanga Omumisiri mu ttale, ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bawa Omumisiri oyo emmere n'alya, era ne bamuwa amazzi n'anywa. Ne bamuwa n'ekitole ky'ettiini n'ebirimba by'ezabbibu ebikalu bibiri (2). Bwe yamala okulya, n'afuna amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu (3) nga talya, era nga tanywa, emisana n'ekiro. Awo Dawudi n'abuuza Omulenzi nti, “Oli musajja w'ani? Era ova wa?” N'addamu nti, “Ndi mulenzi eyava e Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula ennaku ssatu (3) eziyise kubanga nali mulwadde. Twakwekweta obukiikaddyo obw'Abakeresi n'ensi ya Yuda n'obukiikaddyo obwa Kalebu; ne twokya ne Zikulagi omuliro.” Dawudi n'amugamba nti, “Oyinza okuntwala eri ekibiina kino?” N'amuddamu nti, “Ndayirira Katonda nga tolinzita era tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, ndyoke nkutwale eri ekibiina kino.” Awo bwe yamutusaayo, ne babasanga nga beesuddesudde mu kifo kyonna, nga balya, nga banywa, nga basanyuka olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda. Awo nga buwungeera, Dawudi n'abalumba, n'abalwanyisa okutuusa akawungeezi ak'olunaku olwaddirira. Era ku bo ne watabaawo n'omu awonawo, okuggyako abavubuka bina (400), abeebagala eŋŋamira ne badduka. Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze; Dawudi n'awonya bakazi be bombi. Ne watabulawo kintu kyonna Abamaleki bye baali banyaze, oba kitono oba kinene, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'omunyago gwonna; Dawudi n'akomyawo byonna. Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.” Awo Dawudi n'agenda eri abasajja ebibiri (200), abaali bakooye ennyo ne batayinza kugenda naye era abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye. Dawudi bwe yabatuukako, n'abalamusa. Awo abantu bonna ababi n'abatalimu nsa, mwabo abagenda ne Dawudi, ne bagamba nti, “Tetujja kubawa ku munyago gwetusuzizza kubanga tebagenda naffe; wabula buli muntu tumuddize mukazi we n'abaana be bagende.” Awo Dawudi n'ayogera nti, “Baganda bange, si bwe mugenda okukola ku ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyatutabaala. Era tewali ajja kuwuliriza bye mugamba. Eyasigala ng'akuuma ebintu, n'oyo eyagenda ku lutalo, bateekwa okufuna omugabo gwe gumu, bajja kugabana kyenkanyi.” Okuva ku lunaku olwo, eryo nerifuuka etteeka n'empisa mu Isiraeri ne leero. Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'agamba nti, “Kino ekirabo kye mbaweerezza, kivudde ku munyango gwe twaggya ku balabe ba Mukama.” N'aweereza ab'e Beseri, n'ab'e Lamosi eky'omu bukiikaddyo, n'ab'e Yattiri, n'ab'e Aloweri, n'ab'e Sifumosi, n'ab'e Esutemoa, n'ab'e Lakali, n'ab'omu bibuga by'Abayerameeri, n'ab'omu bibuga by'Abakeeni, n'ab'e Koluma, n'ab'e Kolasani, n'ab'e Asaki, n'ab'e Kebbulooni, ne mu bifo byonna Dawudi ne basajja be bye baatambulatambulangamu. Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri; abasajja ba Isiraeri ne badduka Abafirisuuti; Abaisiraeri bangi ne battibwa ku lusozi Girubowa. Abafirisuuti ne bawondera Sawulo ne batabani be ne babatukako; Abafirisuuti ne batta Yonasaani ne Abinadaabu ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo. Olutalo nerunyigiriza nnyo Sawulo, abalasi ne bamutuukako; ne bamulasa akasaale, n'abeera mu bulumi bungi nnyo. Awo Sawulo n'agamba oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite; abatali bakomole baleme okunzita ne banswaza.” Naye eyasitulanga eby'okulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako. Awo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afiira wamu naye. Sawulo n'afa bw'atyo, ne batabani be bonsatule, n'oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye, n'abasajja be bonna, ne baafiira ku lunaku lumu. Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w'ekiwonvu n'abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. Awo olwatuuka enkya Abafirisuuti bwe bajja okunyaga abafu, ne basanga Sawulo ne batabani be bonsatule nga bagudde ku lusozi Girubowa. Ne bamusalako omutwe, ne bamuggyako eby'okulwanyisa bye, ne batuma mu nsi ey'Abafirisuuti enjuyi zonna, okubuulira ebigambo ebyo mu masabo omwali ebifaananyi byabwe ne mu bantu. Ne bateeka eby'okulwanyisa bye mu nnyumba ya Baasutaloosi; ne basiba omulambo gwe ku bbugwe ow'e Besusani. Awo ab'e Yabesugireyaadi bwe baawulira Abafirisuuti kye baakoze Sawulo, abazira bonna ne bagolokoka ne batambula ne bakeesa obudde ne baggya omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be ku bbugwe w'e Besusani, ne bagitwala e Yabesi ne bagyokera eyo. Ne baddira amagumba gaabwe, ne bagaziika wansi w'omumyuliru e Yabesi ne basiibira ennaku musanvu (7). Awo olwatuuka Sawulo ng'amaze okufa, ne Dawudi ng'akomyewo ng'amaze okuwangula Abamaleki, era nga yakamala ennaku bbiri (2) e Zikulagi; awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu (3), omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe, awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza. Dawudi n'amubuuza nti, “Ova wa?” N'amuddamu nti, “Ntolose okuva mu lusiisira lwa Isiraeri.” Dawudi n'amugamba nti, “Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira.” N'addamu nti, “Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.” Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde?” Omulenzi n'amuddamu nti, “Nnabadde ku lusozi Girubowa ne ndaba Sawulo nga agudde ku ffumu lye. Era ne ndaba ab'amagaali n'abeebagadde embalaasi nga bamufumbiikiriza. Awo bwe yakyuse n'andaba, n'ampita. Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ N'aŋŋamba nti, ‘Ggwe ani?’ Ne muddamu nti, ‘Nze ndi Mwamaleki.’ N'aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga nfumitiddwa ebiwundu by'amaanyi sijja kuwona.’ Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu nga amaze okugwa; ne muggyako engule eyali ku mutwe gwe, n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbikuletedde mukama wange.” Awo Dawudi n'akwata engoye ze n'aziyuza; era n'abasajja bonna abaali naye ne bakola bwe batyo; ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga battiddwa n'ekitala. Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti, “Oli wa wa?” N'addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki.” Dawudi n'amubuuza nti, “ Kiki ekyakulobera okutya okugolola omukono gwo okuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako amafuta?” Dawudi n'ayita omu ku balenzi n'amugamba nti, “Sembera omutte.” N'amufumita n'amutta. Dawudi n'amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; akamwa ko ye mujulirwa kubanga oyogedde nti, ‘Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ” Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we bwati, n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda oluyimba olw'omutego; laba, lwawandiikibwa mu Kitabo kya Yasali. Ekitiibwa kyo, ayi Isiraeri, kittiddwa ku bifo byo ebigulumivu! Ab'amaanyi nga bagudde! Temukibuuliranga mu Gaasi, Temukyatulanga mu nguudo za Asukulooni; Abawala b'Abafirisuuti baleme okusanyuka, Abawala b'abatali bakomole baleme okujaguza. Mmwe ensozi za Girubowa, Ku mmwe kuleme okubaako omusulo newakubadde enkuba, newakubadde ensuku ez'ebiweebwayo; Kubanga eyo engabo ey'ab'amaanyi gye yasuulibwa obubi, Engabo ya Sawulo, ng'ataafukibwako mafuta. Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga mabega Okuva ku musaayi gw'abattibwa, ku masavu g'ab'amaanyi, N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere. Sawulo ne Yonasaani baali balungi nga basanyusa mu bulamu bwabwe, Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa; Baali ba mbiro okusinga empungu, Baali ba maanyi okusinga empologoma. Mmwe abawala ba Isiraeri, mukaabire Sawulo, Eyabambaza engoye ezitwakaala ez'okwesiima, Eyayonja ebyambalo byammwe ne zaabu. Ab'amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku bifo byo ebigulumivu. Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani; Wansanyusanga nnyo nnyini; Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo, Nga kusinga okwagala kw'abakazi. Ab'amaanyi nga bagudde, N'eby'okulwanyisa nga bizikiridde! Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti, “Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda?” Mukama n'amugamba nti, “Yambuka.” Dawudi n'abuuza nti, “Naayambuka wa?” Mukama n'amugamba nti, “Yambuka e Kebbulooni.” Awo Dawudi n'ayambukayo ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri. Ne basajja be abaali naye n'agenda nabo, buli muntu n'ab'omu nnyumba ye; ne babeera mu bibuga eby'omu Kebbulooni. Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda. Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo. Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'abagamba nti, “Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mumuziika! Era nno Mukama abalagenga ekisa n'amazima! nange ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakola ekigambo ekirungi. Kale nno emikono gyammwe gibe n'amaanyi, era mube bazira; kubanga Sawulo mukama wammwe afudde, era ennyumba ya Yuda banfuseeko amafuta okuba kabaka waabwe.” Era Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Sawulo, yali atutte Isubosesi mutabani wa Sawulo, n'amusomosa n'amutwala e Makanayimu; Eyo Abuneeri gye yafuulira Isubosesi kabaka wa Gireyaadi, owa Abasuuli, owa Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isiraeri yonna. Isubosesi mutabani wa Sawulo yali awezezza emyaka ana (40) bwe yatanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ebiri (2). Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi. N'ebiro Dawudi bye yamala nga ye kabaka w'ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni byali emyaka musanvu (7) n'emyezi mukaaga (6). Awo Abuneeri mutabani wa Neeri n'abaddu ba Isubosesi mutabani wa Sawulo ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ebibinja byombi ne baatula, ekimu ku ludda olumu olw'ekidiba, n'ekirala ku ludda olulala. Abuneeri n'agamba Yowaabu nti, “Abavubuka okuva ku buli ludda, bajje balwanire mu maaso gaffe.” Yowaabu n'addamu nti, “Kale bajje.” Awo ne beesowolayo abavubuka kkumi na babiri (12), aba Isubosesi mutabani wa Sawulo ab'Ekika kya Benyamini, n'abavubuka kkumi na babiri (12) aba Dawudi (12). Buli omu n'akwata ow'oku ludda olulala ku mutwe, n'amufumita ekitala mu mbiriizi, ne bagwira wamu. Awo ekifo ekyo ekiri mu Gibyoni kyebaava bakiyita Kerukasu-kazzulimu. Awo olutalo olw'amaanyi ne lubalukawo ku lunaku olwo, basajja ba Dawudi ne bawangula Abuneeri n'Abaisiraeri. Era batabani ba Zeruyiya bonsatule baali eyo, Yowaabu ne Abisaayi ne Asakeri; era Asakeri yali wa mbiro ng'empeewo ey'omu ttale. Asakeri n'awondera Abuneeri; nga takyama ku ddyo newakubadde ku kkono. Awo Abuneeri bweyatunula emabega n'abuuza nti, “Asakeri, ggwe wuuyo?” Asakeri n'addamu nti, “Nze nzuuno.” Awo Abuneeri n'amugamba nti, “Kyama ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku gwa kkono, okwate omu ku balenzi weetwalire eby'okulwanyisa bye.” Naye Asakeri n'atakkiriza kulekerawo kumuwondera. Abuneeri n'addamu nate okugamba Asakeri nti, “Lekera awo okumpondera! Lwaki ompaliriza okukutta? Nnaalabika ntya mu maaso ga muganda wo Yowaabu nga nkusse?” Naye Asakeri era n'ayongera okumuwondera. Awo Abuneeri n'afumita Asakeri omuwunda gw'effumu lye, ne limuyita mu lubuto ne ligguka emabega. Asakeri n'agwa n'afiirawo amangwago. Awo buli muntu eyatuukanga mu kifo ekyo Asakeeri mwe yafiira ng'ayimirira. Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri; awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi olw'e Amma, oluli mu maaso ga Giya ku kkubo erigenda mu ddungu lye Gibyoni. Awo abaana ba Benyamini ne begatta ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bayimirira ku ntikko y'olusozi. Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'amugamba nti, “Tunaalwana kutuusa ddi? Tomanyi nga ku nkomerero tewali kirungi kinaavaamu, okuggyako obulumi obwereere? Tuli baganda bammwe, oliragira ddi basajja bo okukoma okutuwondera?” Yowaabu n'addamu nti, “Katonda nga bw'ali omulamu, singa towanjazze, basajja bange babadde bakukuwondera okutuusa enkya.” Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu bonna ne bayimirira, so tebeeyongera kuwondera Isiraeri. Awo olutalo ne lulyoka luggwa. Awo Abuneeri n'abasajja be ne batambula ekiro kyonna mu Alaba, ne basomoka Yoludaani ne bayita mu Bisulooni yonna ne batuuka e Makanayimu. Awo Yowaabu bwe yakomawo ng'ava okuwondera Abuneeri, n'akuŋŋaanya basajja be bonna, n'asanga nga kubulako kkumi na mwenda (19) nga tobaliddeemu Asakeri. Naye abasajja ba Dawudi baali basse ku ba Benyamini n'abasajja ba Abuneeri; abasajja bisatu mu nkaaga (360). Ne basitula omulambo gwa Asakeri ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe eyali mu Besirekemu. Yowaabu ne basajja be ne batambula ekiro kyonna ne bubakeererera e Kebbulooni. Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi; Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu. Bano be batabani ba Dawudi be yazaalira e Kebbulooni; Omubereberye ye Amunoni, nnyina nga ye Akinoamu Omuyezuleeri; Ow'okubiri ye Kireyaabu, nga nnyina ye Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri; Ow'okusatu ye Abusaalomu, nga nnyina ye Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w'e Gesuli; Ow'okuna ye Adoniya, nga nnyina ye Kaggisi; ow'okutaano ye Sefatiya, nga nnyina ye Abitali; Ow'omukaaga ye Isuleyamu, nga nnyina ye Egula mukazi wa Dawudi. Abo Dawudi be yazaalira e Kebbulooni. Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi; mu nnyumba ya Sawulo. Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya; Isubosesi n'abuuza Abuneeri nti, “Lwaki wegatta n'omuzaana wa kitange?” Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti, “Olowooza ndi mutwe gwe mbwa ya Yuda? Okutuusa kaakati mbadde ku ludda lw'ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, kyokka onnanze omusango ogw'omukazi oyo. Nze Abuneeri, Katonda anzitte, bwe sirituukiriza ekyo Mukama kyeyalayirira Dawudi; okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n'okusimba entebe ya Dawudi okufuga Isiraeri ne Yuda, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba.” Isubosesi n'atayinza kwanukula Abuneeri kigambo kirala, kubanga yamutya. Amangwago Abuneeri n'atuuma ababaka eri Dawudi okumugamba nti, “Ani nannyini nsi? Kola nange endagaano ndyoke nkuyambe okuzza Isiraeri yonna ku ludda lwo.” Dawudi n'amuddamu nti, “Kale, nja kulagaana naawe, singa onookkiriza okundeetera Mikali muwala wa Sawulo ng'ojja okundaba.” Awo Dawudi n'atuuma ababaka eri Isubosesi mutabani wa Sawulo ng'agamba nti, “Mpa mukazi wange Mikali gwe nnaasasulira ebikuta ekikumi (100) eby'Abafirisuuti.” Awo Isubosesi n'atumya Mikali, n'amuggya ku bba Palutieri mutabani wa Layisi. Palutieri n'agenda ng'akaaba, n'awondera Mikali okutuuka mu kibuga Bakulimu. Abuneeri n'agamba Palutieri nti, “Genda, ddayo eka.” Awo n'addayo. Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti, “Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe; kale kaakano mukikole, kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti, ‘Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi mwendirokolera abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna.’ ” Abuneeri era n'ayogera n'Ababenyamini n'alyoka agenda e Kebbulooni okutegeeza Dawudi Ababenyamini n'Abaisiraeri bonna kye basazeewo okukola. Awo Abuneeri n'ajja eri Dawudi n'abasajja abiri (20). Dawudi n'abafumbira embaga. Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti, “Nja kusituka ŋŋende nkuŋŋaanyize Abaisiraeri bonna gy'oli mukama wange kabaka, bakole naawe endagaano, olyoke ofuge bonna nga bwe wayagala.” Awo Dawudi n'asiibula Abuneeri, Abuneeri n'agenda mirembe. Mu kaseera ako, Yowaabu n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne bakomawo okuva mu kikwekweto nga bazze n'omunyago mungi. Kyokka baasanga Abuneeri takyali na Dawudi mu Kebbulooni, kubanga Dawudi yali amusiibudde, era Abuneeri ng'agenze mirembe. Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti, “Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusiibudde mirembe” Awo Yowaabu n'agenda eri kabaka Dawudi n'amugamba nti, “Okoze ki kino! Abuneeri okujja gy'oli n'amuleka n'agenda bugenzi?” Mmanya nga Abuneeri mutabani wa Neeri yazze kukulimba, n'okumanya bw'ofuluma ne bw'oyingira n'okumanya byonna by'okola. Awo Yowaabu bwe yava ewa Dawudi n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamusanga ku luzzi lwa Siira ne bamukomyawo naye nga Dawudi tamanyi. Abuneeri bwe yakomawo mu Kebbulooni, Yowaabu n'amuzza ku bbali w'omulyango, n'aba ng'ayagala okumukuba akaama. Bwe baali awo, n'amufumita olubuto n'amutta, kubanga Abuneeri yali asse Asakeri muganda we. Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti, “Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri; gubeerenga ku Yowaabu n'abennyumba ya kitaawe yonna! Era mu buli mulembe gwonna, mu nnyumba ya Yowaabu mubengamu omulwadde w'enziku, omugenge, omulema, attirwa mu lutalo, oba abulwa emmere.” Bwe batyo Yowaabu ne Abisaayi muganda we bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asakeri e Gibyoni mu lutalo. Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna nti, “Muyuze engoye zammwe, mwesibe ebibukutu, mukungubagire Abuneeri.” Kabaka Dawudi n'agoberera olunnyo. Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni; kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonna ne bakaaba amaziga. Kabaka n'akungubagira Abuneeri n'ayogera nti, “Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa? Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba; Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo.” Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga. Abantu bonna ne bajja okusikiriza Dawudi okulya ku mmere nga obudde bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti, “Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba lw'eneegwa!” Kino abantu bonna ne bakitegeera, ne kibasanyusa. Era byonna kabaka Dawudi bye yakolanga, abantu baabisiimanga. Abantu ba Dawudi bonna n'abantu ba Isiraeri bonna, ne bakitegeera ku lunaku olwo nti tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri. Kabaka n'agamba abaweereza be nti, “Temumanyi nti omukulembeze ow'amaanyi era ow'ekitiibwa mu Isiraeri afudde olwa leero? Newakubadde nga nnafukibwako amafuta okuba kabaka, olwaleero mpulira nga sirina maanyi. Batabani ba Zeruyiya bano bayitiridde okuba abakakanyavu gyendi. Akoze ekibi ekyo, Mukama amusasule ng'obubi bwe, bwe buli!” Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira nga Abuneeri bamutidde e Kebbulooni naatya nnyo, n'Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira. Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri (2) abaami b'ebibiina; omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri ng'erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini; Beerosi kyali kitundu kya Benyamini. Abatuuze abaasooka okukibeeramu baali baddukidde e Gittayimu era gye babeera n'okutuusa kaakati. Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina mutabani we eyalemala amagulu, ng'erinnya lye ye Mefibosesi. Omwana oyo yalina emyaka etaano (5) egy'obukulu Sawulo ne Yonasaani we baafiira. Omuntu bweyava e Yezuleeri n'abika Sawulo ne Yonasaani, omulenzi w'omwana oyo n'amusitula n'adduka. Naye olw'okubanga yali mu bwangu, omwana yamusimattukako n'agwa n'alemala. Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne bagenda ne batuuka mu nnyumba ya Isubosesi ku ssaawa nga mukaaga ez'omuttuntu, ne basanga nga Isubosesi awumuddeko. Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde ng'abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Lekabu ne muganda we Baana ne badduka. Baayingira mu nnyumba nga Isubosesi yeebase ku kitanda mu kisenge mwasula, ne bamufumita ne bamutta. Ne bamutemako omutwe, ne bagutwala. Ne batambula ekiro kyonna, nga bayita mu kkubo erya Alaba. Omutwe gwa Isubosesi ne baguleetera kabaka Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Guguuno omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo eyali ayagala okukutta.” Dawudi n'abaddamu nti, “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna! Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka n'amukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye n'amuwa olw'amawulire ge ago! Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Sisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Isubosesi, ne mbasanyaawo ku nsi kuno?” Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta Lakabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Ne batwala omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri e Kebbulooni. Awo ebika byonna ebya Isiraeri ne bajja eri Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Tuli ba luganda era ba musaayi gumu naawe. Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Isiraeri mu ntalo. Mukama n'akugamba nti, ‘Ggwe onookulemberanga abantu bange Isiraeri, era onoobanga mufuzi wa Isiraeri.’ ” Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. Dawudi weeyafuukira kabaka yali awezezza emyaka asatu (30), n'afugira emyaka ana (40). Yafugira Yuda e Kebbulooni okumala emyaka musanvu (7), n'emyezi mukaaga (6), n'afugira Isiraeri yenna ne Yuda mu Yerusaalemi okumala emyaka asatu mu esatu (33). Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi abatuuze baayo. Abayebusi abo ne balowooza nti Dawudi tayinza kuwangula n'ayingira ekibuga ekyo. Kye baava bamugamba nti, “Toliyingira mu kibuga kino kubanga bamuzibe n'abalema basobola okukuziyiza.” Kyokka Dawudi n'awamba ekigo eky'e Sayuuni; ne kifuuka ekibuga kya Dawudi. Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti, “Buli anatta Abayebusi, ayambukire mu mukutu gw'amazzi atte abazibe b'amaaso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi bekyawa.” Kyebaava boogera nti, “Waliwo abazibe b'amaaso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba.” Dawudi bwe yamala okuwamba ekigo n'akituuma erinnya “Ekibuga kya Dawudi” era n'azimba okukyetooloola okuva e Miiro n'okudda munda. Awo Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, yali naye. Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka n'amuweereza emivule, ababazzi n'abazimbi b'amayinja ne bazimbira Dawudi ennyumba. Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, era nga agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Isiraeri. Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni; Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Gano ge mannya g'abaana Dawudi be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu ne Nasani ne Sulemaani, ne Ibali ne Eriswa; ne Nefegi ne Yafiya; ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti. Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi bamaze okumufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; naye Dawudi n'akiwulira ne yeekweka mu mpuku. Awo Abafirisuuti baali bazze nga babunye mu kiwonvu Lefayimu. Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti, “Nnyambuke eri Abafirisuuti? On'obagabula mu mukono gwange?” Mukama n'agamba Dawudi nti, “Yambuka; kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.” Dawudi n'ajja e Baalu-perazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gawaguzza ne gaanjaala. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baaluperazimu. Abafirisuuti bwe badduka, baalekayo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi ne basajja be ne babitwala. Awo Abafirisuuti ne balumba nate omulundi ogwokubiri ne babuna mu kiwonvu Lefayimu. Era Dawudi n'addamu okubuuza Mukama. Mukama n'amuddamu nti, “Tobalumbira wano; weetooloole odde emabega waabwe obalumbe ng'osinziira mu maaso g'emitugunda. Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka obalumba kubanga nze Mukama nnaaba nkulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafirisuuti.” Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira, era n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa e Gezeri. Awo Dawudi n'akuŋŋaanya abasajja bonna abaalondebwa mu Isiraeri emitwalo esatu (30,000). Awo Dawudi n'abasajja bonna be yali nabo n'agenda e Baale eky'omu Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda ey'endagaano eyitibwa Erinnya ly'ennyini; Mukama ow'eggye atuula ku bakerubi. Ne bateeka ssanduuko ya Katonda ku ggaali empya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi; era Uzza ne Akiyo, batabani ba Abinadaabu, ne bagoba eggaali empya, eyaliko essanduuko ya Katonda, era Akiyo n'akulembera ssanduuko. Dawudi n'ennyumba eya Isiraeri yonna ne bakuba ebivuga mu maaso ga Mukama eby'emiti eby'emiberosi eby'engeri zonna n'ennanga n'entongooli, ebitaasa, ensaasi n'ebisaala. Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Uzza n'agolola omukono gwe n'akwata ku ssanduuko ya Katonda; kubanga ente bwe yeesittala essanduuko ne baanga egenda okugwa. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali essanduuko ya Katonda. Dawudi n'anyiiga kubanga Mukama yabonereza Uzza n'obusungu; n'ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero. Dawudi n'atya Mukama ku lunaku olwo; n'agamba nti, “Essanduuko ya Mukama n'agitwala ntya?” Dawudi n'agaana okutwala essanduuko ya Mukama mu kibuga kye wabula, n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. Awo essanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu (3), mu nnyumba ya Obededomu Omugitti; Mukama n'awa omukisa Obededomu n'ennyumba ye yonna. Awo ne babuulira kabaka Dawudi nti, “Mukama awadde omukisa ennyumba ya Obededomu n'ebibye byonna olw'essanduuko ya Katonda.” Dawudi n'agenda n'aggya essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n'agitwala mu kibuga kya Dawudi ng'asanyuka. Awo olwatuuka abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baali batambudde ebigere mukaaga (6), n'awaayo ente n'ekya ssava. Dawudi n'azinira mu maaso ga Mukama n'amaanyi ge gonna; era Dawudi nga yeesibye ekkanzu eya bafuta. Awo Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne balinnyisa essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu era nga bafuuwa ekkondeere. Awo olwatuuka essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama; n'amunyooma mu mutima gwe. Ne bayingiza essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde; Dawudi n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama. Awo Dawudi bwe yali amaze okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow'eggye. N'agabira abantu bonna, ekibiina kyonna ekya Isiraeri, abasajja n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu. Awo abantu bonna ne baddayo buli muntu mu nnyumba ye. Awo Dawudi n'akomawo okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okusisinkana ne Dawudi n'ayogera nti, “Kabaka wa Isiraeri ng'abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g'abazaana b'abaddu be, ng'omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi!” Dawudi n'agamba Mikali nti, “Ky'abadde mu maaso ga Mukama, eyannonda okusinga kitaawo n'okusinga ennyumba ye yonna okunfuula omukulu w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri; kyenaavanga nzannyira mu maaso ga Mukama. Era neeyongeranga okwetoowaza okukirawo, era n'abanga anyoomebwa mu maaso gange nze; naye abazaana b'oyogeddeko abo balinzisaamu ekitiibwa.” Mikali muwala wa Sawulo n'atazaala mwana okutuusa ku lunaku kwe yafiira. Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola, awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti, “Laba nno, nze nsula mu nnyumba ey'emivule naye nga essanduuko ya Mukama nga eri mu weema.” Awo Nasani n'agamba kabaka nti, “Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe.” Awo olwatuuka ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Nasani nti, “Genda ogambe omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba gyendibeeramu?’ Kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe n'aggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'okutuusa leero, naye natambuliranga mu weema. Mu bifo byonna mwe n'atambulira n'abaana ba Isiraeri, nali njogedde ekigambo n'ekika kyonna ekya Isiraeri, kye nalonda okukulembera abantu bange Isiraeri, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule? Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nnakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri; era nabanga naawe buli gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi. Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye, era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era Mukama nate akubuulira nti alikwaza. Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo omu ku baana bo okuba kabaka era ndinyweza obwakabaka bwe. Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ennaku zonna. Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anakolanga ekitali kituufu, naamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we; naye okusaasira kwange tekuumuvengako, nga bwe nnakuggya ku Sawulo, gwe nnaggyawo mu maaso go; N'ennyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go; entebe yo erinywezebwa ennaku zonna.’ ” Awo ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri n'okwolesebwa okwo kwonna, bw'atyo Nasani bwe yabibuulira Dawudi. Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti, “Nze ani, ayi Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano? Naye n'ekyo Ayi Mukama Katonda kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubiza bingi ezzadde lyange. Ayi Mukama Katonda era n'ekyo okimanyisizza. Era kiki ekirala nate, nze Dawudi ky'enyinza okukugamba? Kubanga Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo. Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, n'otegeeza omuddu wo. Ky'obeeredde omukulu, ayi Mukama Katonda; kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda mulala wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe. Era ggwanga ki mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, Katonda be yenunulira okuba abantu be! Ebintu ebikulu eby'entiisa bye wa bakolera byayatikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne bakatonda baabwe. Bo Abaisiraeri n'obafuula abantu bo emirembe gyonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe. Era kaakano, ayi Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde. Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti, ‘Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri, n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.’ Kubanga ggwe, ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba;’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋaanga okukusaba okusaba kuno. Era nno, ayi Mukama Katonda, ggwe Katonda, n'ebigambo byo mazima, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi; kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna; kubanga ggwe, ayi Mukama Katonda, okyogedde, era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.” Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula; n'abawambako ekibuga Mesegamma. Awo n'awangula Abamowaabu, n'abagalamiza wansi mu nnyiriri ssatu (3), n'attako ennyiriri bbiri (2) n'alekawo lumu. Awo Abamowaabu ne baba baweereza ba Dawudi ne bamuwanga emisolo. Era Dawudi n'awangula ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yali agenda okujeemulula amatwale ge agali waggulu w'omugga Fulaati. Dawudi n'amuwambako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu (1,700), n'abatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), embalaasi zonna ezisika amagaali Dawudi n'azitema enteega, naye neyerekerawo ez'amagaali kikumi (100). Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000) Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi. Nnaggya ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, ebikomo bingi nnyo. Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri, n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amuwangula; kubanga yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo; n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu bye yali aggye ku mawanga ge yawangula; okuva mu Busuuli, Mowaabu, Abaana ba Amoni, Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba. Dawudi n'ayatikirira n'eyegulira erinnya. Bwe yakomawo n'atta aba Edomu omutwalo gumu mu kanaana (18,000) mu Kiwonvu eky'Omunnyo. N'ateeka ebigo okubuna Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga okuwangula buli gye yagendanga. Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; Dawudi n'alamula abantu be mu mazima n'obwenkanya. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza; Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Seroya ye yali omuwandiisi; Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi baali bakabona. Dawudi n'abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu asigaddewo ku b'omu nnyumba ya Sawulo, mmukolere eby'ekisa ku lwa Yonasaani?” Awo waaliwo ku nnyumba ya Sawulo omuddu erinnya lye Ziba, ne bamuyita okugenda eri Dawudi; kabaka n'abuuza nti, “Ggwe Ziba?” N'addamu nti, “ Omuddu wo ye wuuyo.” Kabaka n'amubuuza nti, “Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukolere eby'ekisa kya Katonda?” Ziba n'addamu kabaka nti, “ Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere.” Kabaka n'amubuuza nti, “ Ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti, “Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.” Awo kabaka Dawudi n'atumya Mefibosesi ne bamuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali. Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani muzzukulu wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'amuyita nti, “Mefibosesi,” n'addamu nti, “Nze nzuuno omuddu wo.” Dawudi n'amugamba nti, “Totya; kubanga nja kukolera eby'ekisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.” Ne yeeyanza n'ayogera nti, “Omuddu wo nze ani ggwe okundowozaako kubanga ninga embwa enfu.” Awo kabaka n'ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n'amugamba nti, “Byonna ebyabanga ebya Sawulo n'eby'ennyumba ye yonna mbiwadde omwana wa mukama wo. Naawe onoomulimiranga emmere, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga; naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange.” Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano (15) n'abaddu abiri (20). Awo Ziba n'agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga.” Bw'atyo Mefibosesi naaliranga ku mmeeza ya kabaka ng'omu ku baana ba kabaka. Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi. Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi; kubanga bulijjo yaaliranga ku mmeeza; era yalemala ebigere bye byombi. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, Kanuni mutabani we n'afuga mu kifo kye. Dawudi n'ayogera nti, “N'akola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankolera nange eby'ekisa.” Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni. Naye abakulu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi amussaamu ekitiibwa kitaawo n'akutumira ab'okukukubagiza? Dawudi takutumidde baddu be okukebera ekibuga n'okukiketta n'okukimenya?” Awo Kanuni n'atwala abaddu ba Dawudi n'abamwako ekitundu ky'ebirevu byabwe n'abasalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku makugunyu gaabwe, n'alyoka abasindika baddeyo. Dawudi ekyo bwe baakimubuulira, n'abatumira abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.” Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga beebeekyayisizza Dawudi; ne batuma ne bapangisa Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), ne kabaka w'e Maaka ng'alina abasajja lukumi (1,000), n'abasajja ab'e Tobu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Awo Dawudi bwe yakiwulira, n'atuma Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi. Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango; n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale. Awo Yowaabu bwe yalaba olutalo nga luli mu maaso ge n'emabega we, n'ayawulamu abasajja bonna aba Isiraeri abalonde n'abasimba ennyiriri okwolekera Abasuuli; abantu bonna abalala n'abakwasa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, n'abasimba ennyiriri okwolekera abaana ba Amoni. N'ayogera nti, “Abasuuli bwe banannema, ggwe on'ombeera; naawe abaana ba Amoni bwe banaakulema, nange najja ne nkuyamba. Kale ddamu amaanyi twerage masajja olw'abantu baffe n'olw'ebibuga bya Katonda waffe; era Mukama akole nga bw'asiima.” Awo Yowaabu n'abantu abaali naye ne basembera ku lutalo okulwana n'Abasuuli; ne badduka mu maaso ge. Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo e Yerusaalemi. Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne bakuŋŋaana. Awo Kadadezeri n'atuma n'aggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga; ne bajja e Keramu, Sobaki omukulu w'eggye lya Kadadezeri ng'abakulembedde. Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, n'asomoka Yoludaani n'ajja e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi ne balwana naye. Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali lusanvu (700), n'abeebagala embalaasi emitwalo ena (40,000), n'afumita Sobaki omukulu w'eggye lyabwe n'afiira eyo. Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Isiraeri, ne babaweereza. Awo Abasuuli ne batya okweyongera nate okuyamba abaana ba Amoni. Awo olwatuuka mu biseera eby'omwaka bakabaka mwe batabaalira, Dawudi n'atuma Yowaabu n'abaddu be ne Isiraeri yenna; ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Awo olwatuuka akawungeezi Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'atambula waggulu ku nnyumba ya kabaka; era ng'asinziira ku nnyumba n'alaba omukazi ng'anaaba; era omukazi yali mulungi nnyo okutunuulira. Awo Dawudi n'atuma ababaka baabulirize omukazi oyo ebimufaako. Ne wabaawo eyayogera nti, “Oyo si Basuseba muwala wa Eriyaamu, mukazi wa Uliya Omukiiti?” Awo Dawudi n'atuma ababaka ne bamuleeta neyeegatta naye; kubanga yali alongoosebwa obutali bulongoofu bwe; omukazi n'addayo mu nnyumba ye. Omukazi n'aba olubuto; n'atumira Dawudi n'amugamba nti, “Ndi lubuto.” Dawudi n'atumira Yowaabu nti, “Mpeereza Uliya Omukiiti.” Yowaabu n'aweereza Uliya eri Dawudi. Awo Uliya bwe yajja gy'ali, Dawudi n'amubuuza Yowaabu bwe yali n'abantu bwe baali n'olutalo bwe lwali. Dawudi n'agamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo onaabe ebigere.” Uliya n'ava mu nnyumba ya kabaka, kabaka n'amugobereza ekirabo. Naye Uliya n'atagenda mu nnyumba ye, nasula ku mulyango gw'ennyumba ya kabaka wamu n'abaddu bonna aba mukama we. Awo bwe baamubuulira Dawudi nti, “Uliya teyagenze mu nnyumba ye,” Dawudi n'abuuza Uliya nti, “Tewavudde mu lugendo? Kiki ekyakulobedde okugenda mu nnyumba yo?” Uliya n'addamu Dawudi nti, “Essanduuko ne Isiraeri ne Yuda basula mu nsiisira; ne mukama wange Yowaabu n'abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale mu bbanga; olwo nze ŋŋenda ntya mu nnyumba yange okulya n'okunywa n'okusula ne mukazi wange? Nga bw'oli omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu sijja kukola kigambo ekyo.” Awo Dawudi n'agamba Uliya nti, “Beera wano n'olwa leero, enkya nkusindike oddeyo.” Awo Uliya n'amala olunaku olwo n'olwaddirira mu Yerusaalemi. Awo Dawudi n'amuyita, n'aliira era n'anywera mu maaso ge; n'amutamiiza; n'ekiro ekyo Uliya n'ataddayo mu nnyumba ye, naye nasula ku kitanda kye wamu n'abaddu ba mukama we. Awo enkeera Dawudi n'awandiikira Yowaabu ebbaluwa, n'agiwa Uliya okugimutwalira. N'awandiika mu bbaluwa nti, “Muteeke Uliya mu maaso awali olutalo olw'amaanyi, mumwabulire, balyoke bamufumite afe.” Awo olwatuuka Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'ateeka Uliya mu kifo we yamanya nti we wali abalabe ab'amaanyi. Abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwana ne Yowaabu; awo ku bantu ne kufaako abamu, ku baddu ba Dawudi; Uliya Omukiiti naye n'afa. Awo Yowaabu n'atuma omubaka n'abuulira Dawudi eby'olutalo byonna; n'akuutira omubaka ng'ayogera nti, “Bw'oliba ng'omaze okubuulira kabaka eby'olutalo byonna, awo olunaatuuka kabaka bw'anaasunguwala, n'akugamba nti, ‘Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi n'ekibuga okulwana? Temwamanya nga baliyima ku bbugwe okulasa? Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Omukazi teyamukasukako enso ng'ayima ku bbugwe, n'afiira e Sebezi? Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi ne bbugwe?’ Awo onoomuddamu nti, ‘N'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ” Awo omubaka n'agenda n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma. Omubaka n'agamba Dawudi nti, “Abalabe baatunyigiriza nnyo ne batulumba ebweru mu bbanga, ne tufunvubira okubazayo okutuuka awayingirirwa mu mulyango. Abalasi ne balasa abaddu bo nga bayima ku bbugwe; era ku baddu ba kabaka kufuddeko abamu, n'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.” Awo Dawudi n'agamba omubaka nti, “Bw'oti bw'oba ogamba Yowaabu nti, Ekyo kireme kukuterebula, kubanga tewali ayinza kumanya oyo anaafiira mu lutalo. Kale nno weeyongere okulumba ekibuga n'amaanyi, okiwambe. Era naawe mugumye omwoyo.” Awo muka Uliya bwe yawulira nga bba afudde, n'amukungubagira. Ekiseera eky'okukungubaga bwe kyaggwaako, Dawudi n'amutumya n'amuleeta mu nnyumba ye, n'aba mukazi we era n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Naye ekigambo Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama. Awo Mukama n'atuma Nasani eri Dawudi. N'agenda gy'ali n'amugamba nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga n'omulala nga mwavu. Omugagga yalina endiga n'ente nnyingi nnyo nnyini; naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k'endiga akaluusi ke yagula n'akalabirira; ne kakulira wamu n'abaana be; kaalyanga ku mmere ye, ne kanywanga ku kikopo kye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy'ali nga muwala we. Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo, n'alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy'ali, naye n'atwala omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omusajja azze gy'ali.” Awo Dawudi n'asunguwalira nnyo omusajja; n'agamba Nasani nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, omusajja oyo eyakola ekyo asaanidde kufa; era alizzaawo omwana gw'endiga emirundi ena (4), kubanga bweyakola ekyo teyalina kusaasira.” Awo Nasani n'agamba Dawudi nti, “Ye ggwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo; ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'ebyo singa byali bitono, n'andikwongeddeko ne birala bingi. Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? Osse Uliya Omukiiti n'ekitala, n'otwala mukazi we okuba mukazi wo, omusse n'ekitala eky'abaana ba Amoni. Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga nze onnyoomye nze n'otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo.’ Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazi bo nga olaba ne mbawa muliraanwa wo, era alyebaka nabo emisana ttuku. Kubanga ggwe wakikola mu kyama; naye nze ndikikola nga Abaisiraeri bonna balaba, emisana ttuku.’ ” Awo Dawudi n'agamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani n'agamba Dawudi nti, “Mukama naye aggyeewo ekyonoono kyo; toofe. Naye kubanga owadde abalabe ba Mukama ebbanga ddene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa ajja kufa.” Awo Nasani ne yeddirayo mu nnyumba ye. Awo Mukama n'alwaza omwana muka Uliya gwe yazaalira Dawudi; Omwana n'alwala nnyo. Dawudi kyeyava yeegayirira Katonda olwo mwana; Dawudi n'asiiba n'ayingira mu nnyumba, n'agalamira ku ttaka okukeesa obudde. Awo abakadde ab'omu nnyumba ye ne bajja, ne bayimirira w'ali, okumuyimusa okuva wansi, naye n'atakkiriza era n'agaana n'okulya nabo emmere. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaddu ba Dawudi ne batya okumubuulira omwana ng'afudde; kubanga baayogera nti, “Laba, omwana bwe yali ng'akyali mulamu ne twogera naye, n'atawulira ddoboozi lyaffe; kale anaabeera atya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde?” Naye Dawudi bwe yalaba abaddu be nga boogerera wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'afudde; Dawudi n'abuuza nti, “Omwana afudde?” Ne bamuddamu nti, “ Afudde.” Awo Dawudi n'ava wansi n'anaaba n'asaaba amafuta, n'akyusa ebyambalo bye; n'agenda mu nnyumba ya Mukama n'asinza; n'alyoka addayo mu nnyumba ye; awo bwe yayagala okulya ne bateeka emmere mu maaso ge n'alya. Awo abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana bwe yali ng'akyali mulamu; naye omwana ng'afudde, n'ogolokoka n'olya ku mmere!” Dawudi n'addamu nti, “Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nnasiiba ne nkaaba; kubanga nnalowooza nti, ‘Ani amanyi oba olyawo Mukama anankwatirwa ekisa omwana n'awona.’ Naye kaakano ng'amaze okufa nnandisiibidde ki? Nnyinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy'ali naye ye takyadda gye ndi.” Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye; n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala; Mukama n'atuma Nnabbi Nasani, n'atuuma omwana erinnya lye Yedidiya, kubanga Mukama yamwagala. Awo Yowaabu n'alwana n'abaana ba Amoni, n'awamba Labba ekibuga kya kabaka. Awo Yowaabu n'atumira Dawudi ababaka n'agamba nti, “Nnwanye ne Labba, ekibuga eky'amazzi nkiwambye. Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okimenye; nneme okumenya ekibuga ne bakituuma erinnya lyange.” Dawudi n'akuŋŋaanya abantu bonna n'agenda e Labba, n'alwana nakyo n'akimenya. N'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwali talanta eya zaabu, ne mu yo nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. Mu kibuga n'aggyamu omunyago mungi nnyo. Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi, era n'abakozesa mu kwokya amatoffaali. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abamoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemi. Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, erinnya lye Tamali; awo olwatuuka Amunoni mutabani wa Dawudi n'amwegomba. Awo Amunoni naayaka olw'okwegomba okubeera ne mwannyina Tamali; n'okulwala n'alwala; Tamali yali tannamanya musajja, Amunoni n'akirowooza nga kizibu okumufuna. Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi; era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo. N'amugamba nti, “Ggwe omwana wa kabaka lwaki weeyongera okukenena buli lunnaku? Kiki mbuulira.” Amunoni n'addamu nti, “Njagala Tamali mwannyina Abusaalomu muganda wange.” Awo Yonadabu n'amugamba nti, “Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze; kale kitaawo bw'alijja okukulaba, n'omugamba nti, ‘Nkwegayiridde mwannyinaze Tamali ajje ampe emmere okulya, afumbire emmere mu maaso gange nga ndaba agimpe ngirye.’ ” Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza; awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti, “Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange agimpe ngirye.” Awo Dawudi n'atumira Tamali ng'agamba nti, “Genda nno mu nnyumba ya mwannyoko Amunoni omufumbire emmere.” Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya mwannyina Amunoni; n'amusanga ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya, n'abufumbamu emigaati nga Amunoni alaba. N'agireetera mu kikalango, n'agissa mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti, “Abasajja bonna bave we ndi.” Abasajja bonna ne bava waali. Amunoni n'agamba Tamali nti, “Leeta emmere mu kisenge ngirye nga woli.” Tamali n'addira emigaati gy'afumbye n'agitwala mu kisenge eri Amunoni mwannyina. Awo bwe yagimusembereza, n'amukwata n'amugamba nti, “Mwannyinaze jjangu weebake nange.” Tamali n'amuddamu nti, “Nedda mwannyinaze, tonkwata, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Isiraeri. Tokola kintu kino eky'obugwenyufu. Kale nze ndiraga wa nga mmaze okuwemuka bwe nti? Oliba omu ku bagwenyufu ab'omu Isiraeri. Kale nno, nkwegayiridde, ekyo kyogere ne kabaka, tajja kukunnyima.” Naye Amunoni n'atamuwuliriza, era kubanga yamusinza amaanyi, n'amukwata lwa mpaka, ne yeebaka naye. Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti, “Situka ogende!” Tamali n'addamu nti, “Nedda mwannyinaze, eky'okunsindikiriza kibi nnyo okusinga kyewasose okukola.” Naye n'atamuwuliriza. Amunoni n'ayita omuddu we eyamuweerezanga n'amugamba nti, “Fulumya omukazi ono ave we ndi, omuggalire ebweru.” Tamali yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi; kubanga bwe batyo bwe baayambalanga abawala ba kabaka embeerera. Awo omuddu n'amufulumya n'amuggalira ebweru. Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka emikono gye ku mutwe gwe n'agenda ng'akaaba. Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti, “Amunoni mwannyoko yeegasse naawe? Naye kaakano sirika, mwannyinaze; ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo.” Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba. Awo kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo. Abusaalomu n'akyawa Amunoni kubanga yali akutte Tamali mwannyina, kyokka Abusaalomu n'atayogera na Amunoni kigambo na kimu, newakubadde ekirungi, wadde ekibi. Awo olwatuuka nga wayiseewo emyaka ebiri, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalu-kazoli, ekiri ku mabbali ga Efulayimu; Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna babeereyo. Abusaalomu n'agenda eri kabaka n'amugamba nti, “Laba, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde kabaka n'abaddu be bagende wamu nange.” Kabaka n'agamba Abusaalomu nti, “Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera.” Abusaalomu n'amwetayirira, kyokka kabaka Dawudi n'agaana okugenda, wabula n'amusabira omukisa. Awo Abusaalomu n'ayogera nti, “Oba ogaanyi, kale nkwegayiridde muganda wange Amunoni agende naffe.” Kabaka n'amubuuza nti, “Kiki ekinaaba kimutwala naawe?” Naye Abusaalomu n'amwetayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye. Awo Abusaalomu n'alagira abaweereza be nti, “Mutunuulire Amunoni, bwe mumulaba ng'atamidde omwenge, era ne mbagamba nti, ‘Mukube Amunoni mumutte,’ temutya kubanga nze nnaaba mbalagidde. Mugume mube bazira.” Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu.” Awo kabaka n'asituka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna abali naye nabo ne bayuza engoye zaabwe. Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti, “Mukama wange aleme okulowooza nti basse abaana ba kabaka bonna abalenzi; Amunoni yekka ye afudde; kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'amaliridde okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina. Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza nti abaana ba kabaka bonna bafudde; kubanga Amunoni yekka ye afudde.” Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyali ku gw'okukuuma bwe yayimusa amaaso, n'alengera abantu bangi nga bajja, nga bakutte ekkubo ery'oku lusozi emabega we. Awo Yonadabu n'agamba kabaka nti, “Laba, abaana ba kabaka batuuse; ng'omuddu wo bw'ayogedde, bwe kityo bwe kiri.” Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa amaloboozi gaabwe; era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini. Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'akungubagiranga mutabani we Amunoni buli lunaku. Awo Abusaalomu n'amala e Gesuli emyaka esatu (3). Kabaka bwe yamala okukungubagira Amunoni, n'alumirwa mutabani we Abusaalomu n'ayagala okugenda gyali. Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu. Yowaabu n'atumya omukazi ow'amagezi okuva e Tekowa n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, era tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro ebingi ng'akungubagira omufu; oyingire eri kabaka omugambe ebigambo bye nnaakugamba.” Awo Yowaabu n'amuweerera ebigambo. Awo omukazi ow'e Tekowa n'ayingira eri kabaka, n'avuunama ne yeeyanza n'ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.” Kabaka n'amubuuza nti, “ Obadde otya?” N'addamu nti, “Mazima nze ndi mukazi nnamwandu ne baze yafa. Omuzaana yalina abaana babiri, ne balwanira ku ttale nga tewali abataasa, omu n'afumita munne n'amutta. Kale kaakano, ekika kyonna kingolokokeddeko nga boogera nti, ‘Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta,’ bwe tutyo tutte n'omusika. Bwe banaakola bwe batyo banaaba bazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna. Kale bwe banaamutta n'aba nsigadde sirina mwana era nga bazikirizza erinnya lya baze nga talinawo zzadde lisigaddewo ku nsi.” Awo kabaka n'agamba omukazi nti, “Ddayo ewuwo, ensonga zo nja kuzikolako.” Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti, “Mukama wange, ayi kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka.” Kabaka n'ayogera nti, “Buli anaakugambanga ekigambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri.” Awo omukazi n'ayogera nti, “Nkwegayiridde ayi kabaka, saba Mukama Katonda wo aziyize oyo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange.” Kabaka n'addamu nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi.” Awo omukazi n'ayogera nti, “Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka.” Kabaka n'addamu nti, “Yogera.” Omukazi n'ayogera nti, “Lwaki wateesa ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? Kubanga kabaka bw'alagira bwatyo, aliŋŋaanga eyesalira omusango, bwatakomyawo eka owuwe eyagobebwa. Ffenna tuli ba kufa, era tuli ng'amazzi agayiise ku ttaka agatayinza kuyoolebwa. Era ne Katonda, omuntu bw'afa, tamukomyawo mu bulamu. Kyokka kabaka asobola okusala amagezi n'akomyawo oyo eyagobebwa, aleme okusigala mu buwaŋŋanguse.” Kale nno, Mukama wange kabaka, kubanga abantu bantiisizzatiisizza, era omuzaana wo nnalowooza nti, “Nja kwogerako ne kabaka, mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde. Kubanga kabaka anaawulira, n'awonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza ffembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda. Nze omuzaana wo kyenva njogera nti, ‘Nkwegayiridde Mukama wange kabaka ekigambo kyo kimpe emirembe;’ kubanga mukama wange kabaka aliŋŋaanga malayika wa Katonda asobola okwawulamu ebirungi n'ebibi; Mukama Katonda wo abeere naawe!” Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti, “Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza.” Omukazi n'ayogera nti, “Mukama wange kabaka mbuuza kaakano.” Kabaka n'amubuuza nti, “Mu bino byonna by'oyogedde mulimu omukono gwa Yowaabu?” Omukazi n'addamu n'ayogera nti, “Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde; kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna; Olw'okwagala okukyusa ebiriwo, omuddu wo Yowaabu kye yavudde akola bw'atyo. Era ggwe mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.” Awo Kabaka n'agamba Yowaabu nti, “Kaakano nzikirizza. Genda okomyewo omuvubuka oyo Abusaalomu.” Awo Yowaabu n'avuunama, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka; n'ayogera nti, “Leero omuddu wo aganze mu maaso go, mukama wange, ayi kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amusabye.” Awo Yowaabu n'asituka n'agenda e Gesuli n'aleeta Abusaalomu e Yerusaalemi. Kabaka n'ayogera nti, “Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okujja mu maaso gange.” Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka. Awo mu Isiraeri yenna temwali muntu n'omu alabika bulungi nga Abusaalomu; okuva wansi ku bigere okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi. Buli nkomerero ya mwaka, Abusaalomu yasalanga enviiri ku mutwe gwe, kubanga zaamuzitoowereranga. Bwe yazisalanga, n'azipima, zaawezanga sekeri bibiri (200), ng'okupima kwa kabaka bwe kwali. Awo Abusaalomu n'azaalirwa abaana ab'obulenzi basatu n'ow'obuwala omu, erinnya lye Tamali; yali mukazi wa maaso malungi. Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri (2) emirambirira mu Yerusaalemi; nga talabye ku maaso ga kabaka. Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali; awo n'atumya nate omulundi ogwokubiri, era n'atakkiriza kujja. Kyeyava agamba abaddu be nti, “Laba ennimiro ya Yowaabu eya Sayiri eriraanye n'eyange; mugende mugyokye.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagyokya. Awo Yowaabu n'alyoka asituka n'agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amubuuza nti, “Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange?” Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti, “Laba nnakutumira nga njogera nti, ‘Jjangu nkutume eri kabaka, omubuuze nti Naviira ki e Gesuli? Kyandibadde kirungi ne mbererayo ddala okutuusa kaakati; kale ka ŋŋende ndabe amaaso ga kabaka, oba nga nnina omusango gwonna anzite.’ ” Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira; kabaka n'ayita Abusaalomu, bwe yagenda gyali n'avuunama mu maaso ge; kabaka n'anywegera Abusaalomu. Awo oluvannyuma lw'ebyo, Abusaalomu ne yeetegekera eggaali n'embalaasi n'abasajja ataano (50) okumukulemberanga. Awo Abusaalomu n'agolokokanga buli nkya n'ayimiriranga ku kkubo erya wankaaki w'ekibuga; omuntu yenna bwe yabanga n'ensonga emwetaagisa okulaba kabaka amulamula, Abusaalomu ng'amuyita n'amubuuza nti, “Oli wa ku kyalo ki?” N'amuddamu nti, “Omuddu wo ava mu kimu ku bika bya Isiraeri.” Abusaalomu n'amugamba nti, “Ebigambo byo birungi; naye tewali muntu kabaka gw'asigidde ku kuwuliriza.” Abusaalomu n'ayogeranga era nti, “Singa nze mulamuzi mu nsi! Buli muntu eyandizenga gyendi ng'alina ensonga nali mulamuliddenga mu mazima.” Awo omuntu bwe yasemberanga awali Abusaalomu okumuvuunamira, nga Abusaalomu agolola omukono gwe ng'amukwatako era ng'amunywegera. Abusaalomu bwe yakolanga Abaisiraeri bonna abajjanga eri kabaka okubalamula; n'abba bwatyo emyoyo gy'abantu ba Isiraeri. Awo olwatuuka emyaka ena (4) bwe gyayitawo, Abusaalomu n'asaba kabaka nti, “Nkwegayiridde ka ŋŋende e Kebbulooni nsasule obweyamo bwange eri Mukama. Kubanga omuddu wo bwe yali e Gesuli mu Busuuli yeeyama eri Mukama nti, ‘Mukama bwalinkomyawo e Yerusaalemi ndimuweereza.’ ” Kabaka n'amugamba nti, “Genda mirembe.” Awo n'agolokoka n'agenda e Kebbulooni. Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonna ebya Isiraeri ng'ayogera nti, “Bwemunaawulira eddoboozi ly'ekkondeere ne mulyoka mwogera nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ” Abusaalomu n'agenda n'abasajja bibiri (200), abaava e Yerusaalemi ne bagenda nga tebamanyiridde; so nga tebamanyi kigambo kyonna. Awo Abusaalomu n'atumya Akisoferi ow'e Giro, omuwi w'amagezi owa Dawudi, ajje amwegatteko. Okwekobaana ne kuba kw'amaanyi, abeekobaana ne Abusaalomu ne bagenda nga beeyongera obungi. Omubaka n'ajja eri Dawudi n'amugamba nti, “Emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri giwuguse, bagoberedde Abusaalomu.” Awo Dawudi n'agamba abaddu be bonna abaali naye nti, “Tudduke; bwe tutadduke, tewaabeewo n'omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Mwanguwe okugenda, aleme kututukako kutuletako kabi, n'atta abantu ab'omu kibuga n'obwogi obw'ekitala.” Awo abaddu ba kabaka ne bagamba kabaka nti, “Laba, abaddu bo beeteeseteese okukola kyonna mukama wange kabaka ky'anaayagala.” Kabaka n'afuluma n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bamugoberera. Kabaka n'aleka abakazi kkumi (10) abazaana okukuuma ennyumba. Awo kabaka n'afuluma abantu bonna ne bamugoberera; ne babeera e Besu-meraki. Abaddu be bonna ne bamuyitako ku mabbali; n'Abakeresi bonna n'Abaperesi bonna n'Abagitti bonna, abasajja lukaaga (600) abaamugoberera okuva e Gaasi, ne bayita mu maaso ga kabaka. Awo kabaka n'agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki ggwe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka, kubanga oli munnaggwanga eyagobebwa. Ddayo ewammwe. Ggwe eyajja jjo, nnaakubungeesa ntya awamu naffe, nga nange simanyi gye ŋŋenda? Ddayo, ozzeeyo ne baganda bo; okusaasira n'amazima bibeere naawe.” Ittayi n'addamu kabaka n'ayogera nti, “Mukama nga bw'ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w'anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n'omuddu wo gy'anaabanga.” Awo Dawudi n'agamba Ittayi Omugitti nti, “Yitawo osomoke.” Ittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'abaana abato bonna abaali naye. Abantu bonna ne bakaaba n'eddoboozi ddene, abantu bonna ne basomoka; ne kabaka naye n'asomoka akagga Kidulooni, ne bagenda mu ddungu. Awo kabona, Zadoki naye n'ajja n'Abaleevi bonna nga basitudde essanduuko ya Katonda ey'endagaano. Ne Abiyasaali n'agenda. Essanduuko ya Katonda ne bagiwummuza wansi, okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga. Awo Kabaka n'agamba Zadoki nti, “Essanduuko ya Katonda gizzeeyo mu kibuga. Mukama bw'aliba ankwatiddwa ekisa, alinkomyawo ne ngiraba yo era n'ennyumba ye. Kyokka bw'aligamba nti, ‘Sikusanyukira n'akatono;’ kale nzuuno nzikirizza ankole nga bw'asiima.” Era kabaka n'agamba Zadoki kabona nti, “Ggwe toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne batabani bo bombi, Akimaazi mutabani wo ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali. Nze nja kusigala nga nnindira ku kagga we basomokera okugenda mu ddungu, okutuusa lwe munantumira ne mubaako kye muntegeeza.” Awo Zadoki ne Abiyasaali ne batwala essanduuko ya Katonda ne bagizzayo mu Yerusaalemi, n'abo ne basigala eyo. Awo Dawudi n'ayambuka ku lusozi olw'emizeyituuni, n'agenda ng'akaaba amaziga nga yeebisse ku mutwe era nga talina ngatto, n'abantu bonna abaali naye ne beebikka ku mitwe gyabwe ne bambuka nga bakaaba amaziga. Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti, “Akisoferi ali mw'abo abeekobaanye ne Abusaalomu.” Dawudi n'asaba nti, “Nkwegayiridde, ayi Mukama, fuula okuteesa kwa Akisoferi okuba obusirusiru.” Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko we basinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekizibawo kye nga yeesiize n'ettaka mu mutwe gwe. Dawudi n'amugamba nti, “Bw'onoogenda nange ojja kunzitoowerera; naye bw'onoddayo mu kibuga n'ogamba Abusaalomu nti, ‘Nze nnabanga omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe nnabanga omuddu wa kitaawo mu biro eby'edda;’ olwo ojja kutataganya okuteesa kwa Akisoferi. Bakabona Zadoki ne Abiyasaali bajja kubeerayo wamu naawe, kale buli kigambo kyonna ky'onoowuliranga okuva mu nnyumba ya kabaka, onookibuuliranga bakabona Zadoki ne Abiyasaali. Laba, batabani baabwe bombi bali nabo eyo, Akimaazi mutabani wa Zadoki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali; abo be munaantumiranga okuntegeeza buli kye munaawuliranga.” Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n'addayo mu kibuga Yerusaalemi, ne bakituukiramu kumu ne Abusaalomu. Awo Dawudi bwe yali ng'ayise katono ku ntikko y'olusozi, Ziba omuddu wa Mefibosesi n'amusisinkana ng'alina endogoyi bbiri (2) eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati bibiri (200), n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu kikumi (100), n'ebibala eby'ekyeya kikumi (100), n'ensawo ey'omwenge ey'eddiba. Kabaka n'abuuza Ziba nti, “Bino oleese byaki?” Ziba n'amuddamu nti, “Endogoyi za nnyumba ya kabaka okwebagalangako, emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi bo okulyako, omwenge gwa kunywebwa abo abanaabanga bakoyedde mu ddungu.” Kabaka n'abuuza nti, “Mefibosesi mukama wo ali ludda wa?” Ziba n'amuddamu nti, “Asigadde Yerusaalemi kubanga agambye nti, ‘Leero Abaisiraeri banziriza obwakabaka bwa jjajjange!’ ” Awo kabaka n'agamba Ziba nti, “Byonna ebya Mefibosesi kaakano bibyo.” “Ziba n'addamu nti Neeyanziza, n'eyongere okuganja mu maaso go, ayi mukama wange kabaka.” Awo kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, ne mufuluma omwo omusajja ow'oku nda y'ennyumba ya Sawulo, erinnya lye Simeeyi, mutabani wa Gera; n'afuluma n'ajja, ng'akolima. N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaddu bonna abaali naye, n'abasajja bonna ab'amaanyi baali beetoolodde kabaka. Awo Simeeyi n'avuma Dawudi ng'agamba nti, “Vaawo, genda, musajja ggwe omutemu era atagasa. Mukama awooledde eggwanga ku ggwe olw'okutta ab'ennyumba ya Sawulo, ggwe wanyagako obwakabaka bwe. Obwakabaka Mukama kyavudde abuwa Abusaalomu mutabani wo. Laba kaakano otuuse okuzikirira, kubanga oli mutemu!” Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'agamba kabaka nti, “Embwa eno enfu lwaki ekuvuma? Nzikiriza ŋŋende mutemeko omutwe.” Kabaka n'agamba nti, “Kiki kyenina okukola nammwe batabani ba Zeruyiya? Bwaba nga akolima nga Mukama y'amugambye nti, ‘Kolimira Dawudi;’ Kale ani anaayogera nti, ‘Kiki ekikukozeseza bw'otyo?’ Omubenyamini mumuleke avume kubanga Mukama yamulagidde. Olaba ne mutabani wange gwenezaalira naye ayagala okunzita! Oba olyawo Mukama anaatunuulira ekibi ekinkoleddwa, naansasula mu obulungi olw'okuvumibwa bw'entyo.” Awo Dawudi ne basajja ne beeyongera okutambula nga bayita mu kkubo; Simeeyi ye n'ayita ku lusozi nga abolekedde, n'agenda nga amuvuma nga era bwabakasukirira amayinja n'okubafumuliira enfuufu. Awo Kabaka n'abantu bonna abaali naye ne batuuka nga bakooye ne bawumulirako awo. Awo Abusaalomu ng'ali ne Akisoferi n'abasajja bonna Abaisiraeri ne bayingira Yerusaalemi. Awo olwatuuka Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, najja eri kabaka Abusaalomu, n'amugamba nti, “Wangaala Ayi kabaka! Wangaala ayi kabaka!” Abusaalomu n'abuuza nti, “Kusaayi nti, Bw'otyo bwoyagala mukwano gwo Dawudi? Kiki ekyakulobera okugenda naye?” Kusaayi n'addamu Abusaalomu nti, “Oyo Mukama n'abantu bonna Abaisiraeri gwe balonze, nange n'abeeranga wuwe era n'abanga naye. Era n'ekirala, ani gwe nnaaweereza bwe siweereza mutabani wa mukama wange? Nga bwe nnaweerezanga kitaawo, era bwe ntyo naawe bwe nnaakuweerezanga.” Awo Abusaalomu n'abuuza Akisoferi nti, “Tuwe amagezi, tukole tutya?” Akisoferi n'addamu Abusaalomu nti, “Genda weegatte n'abazaana bakitaawo b'alese okukuuma olubiri; Isiraeri yenna balikiwulira balimanya nga kitaawo akukyaye, olwo abantu bonna abali naawe ne balyoka beeyongera amaanyi.” Awo ne baterawo Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba; Abusaalomu n'agenda neyeegatta n'abazaana ba kitaawe nga Isiraeri yenna alaba. Mu biro ebyo amagezi gonna Akisoferi ge yawanga gakkirizibwanga nga agavudde eri Katonda; era Dawudi ne Abusaalomu ne bagagobereranga. Era nate Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti, “Ka nnonde nno abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000) ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino. Nja kumutuukako ng'akyali mukoowu era ng'aweddemu amaanyi, mmukube entiisa, n'abantu bonna abali naye badduke, nzite kabaka yekka. Awo ndyoke nkomyewo abantu bonna gy'oli, ng'omukazi bw'akomawo ewa bba. Gwe weetaaga okutta, ali omu, abantu bonna balyoke babe n'emirembe.” Okuteesa okwo Abusaalomu n'akusiima nnyo n'abakadde ba Isiraeri bonna. Awo Abusaalomu n'ayogera nti, “Mpitira nno ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire naye ky'agamba.” Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti, “Akisoferi atugambye bw'ati ne bw'ati. Tukole nga bw'agambye? Oba si kyo gwe ogamba otya?” Awo Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti, “Okuteesa Akisoferi kw'aleese omulundi guno si kulungi.” Era nate Kusaayi n'amugamba nti, “Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, nga obw'eddubu ennyagiddwako abaana baayo ku ttale; era kitaawo musajja mulwanyi, tayinza kusula mu bantu. Era kaakano yeekwese mu bunnya oba awantu awalala. Bwe wanaabaawo abafa mu lulumba olusooka, abanaakiwulira bajja kugamba nti, ‘abagoberezi ba Abusaalomu battiddwa nnyo.’ Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋaanga omutima gw'empologoma, aligweramu ddala amaanyi; kubanga Isiraeri yenna bamanyi nga kitaawo musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira. Naye nze amagezi genkuwa, kuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, babe bangi ng'omusenyu gw'ennyanja; naawe mwene otabaale. Tulimuketta ne tumuzindukiriza, netumugwako nga omusulo bwe gugwa ku ttaka; tulitta abasajja be bonna obutalekawo n'omu. Bw'aliddukira mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.” Awo Abusaalomu n'abasajja ba Isiraeri bonna ne boogera nti, “Okuteesa kwa Kusaayi Omwaluki kusinze okuteesa kwa Akisoferi.” Kubanga Mukama yali asazeewo okuteesa okulungi Akisoferi kwe yaleeta kuleme kugobererwa alyoke aleete akabi ku Abusaalomu. Awo Kusaayi n'abuulira Zadoki ne Abiyasaali bakabona nti, “Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri amagezi; ate bw'enti nange bwe mbawadde amagezi. Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti, ‘Tosula mu kiro kino awasomokerwa mu ddungu; mu ngeri yonna asomoke, kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye.’ ” Awo Yonasaani ne Akimaazi ne balindiranga ku Luzzi Enerogeri, kubanga baali beewala okulabibwa mu kibuga. Omuzaana n'agendanga n'ababuulira nabo ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi. Naye lwali lumu omulenzi n'abalaba n'ategeeza Abusaalomu; awo bombi ne bagenda mangu ne batuuka ku nnyumba y'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo. Omukazi n'addira ekisaanikira n'asaanikira ku luzzi, n'ayanjalirako eŋŋaano ensekule; nga tewaali ayinza kubaako kyamanya. Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” Omukazi n'abaddamu nti, “Basomose akagga bagenze.” Awo bwe banoonya ne batabalaba ne baddayo e Yerusaalemi. Awo abaddu ba Abusaalomu nga bamaze okugenda, Akimaazi ne Yonasaani ne bavaayo mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi. Awo ne bagamba Dawudi nti, “Mugolokoke mangu musomoke kubanga Akisoferi abasalidde amagezi okubalwanyisa.” Awo Dawudi n'asituka n'abantu bonna be yali nabo ne basomoka Yoludaani; emmambya okugenda okusala nga bamaze okusomoka. Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tebagagoberedde, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe, n'atereeza eby'omu maka ge, ne yeetuga ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe. Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu naye n'asomoka Yoludaani ng'ali n'abasajja ba Isiraeri bonna. Abusaalomu n'alonda Amasa okubeera omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuisiraeri eyali awasizza Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina wa Yowaabu. Awo Isiraeri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi. Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu, ne baleeta ebitanda, n'ebibya, n'entamu, n'eŋŋaano, ne sayiri, n'obutta, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, n'empokya ensiike, n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya; kubanga baayogera nti, “Abantu balumiddwa nnyo enjala ne nnyonta era bakoyedde nnyo mu ddungu.” Awo Dawudi n'abala abantu abali naye n'abateekako abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi. Dawudi n'agaba eggye nga liri mu bibinja bisatu (3) ebyenkanankana. Ekibinja ekimu ne kikulirwa Yowaabu, ekirala ne kikulirwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, era muganda wa Yowaabu, n'ekirala ne kikulirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti, “Nange kennyini nja kugenda nammwe.” Naye abantu ne bagamba nti, “Tojja kugenda, kubanga ffe bwe tunadduka, abalabe tebajja kussaayo mwoyo kuffe. Wadde ku bantu baffe ne bwe kunaafaako ekimu eky'okubiri, era abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Naye ggwe wenkana abantu omutwalo mulamba (10,000), mu ffe. Kale nno ekisinga obulungi sigala, weeteeketeeke okutuddukirira nga osinzira mu kibuga.” Kabaka n'abagamba nti, “Kye musiima kye nnaakola.” Kabaka n'ayimirira ku mabbali g'omulyango, abantu bonna ne bafuluma n'enkumi. Awo kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti, “Mumukwata mpola ku lwange omulenzi, Abusaalomu.” Abantu bonna ne bawulira kabaka bwe yalagira abaami bonna ebigambo bya Abusaalomu. Awo abantu ne batabaala okulwana ne Isiraeri; olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu. Awo abantu ba Isiraeri ne bagobebwa eyo mu maaso g'abaddu ba Dawudi, ne waba eyo ku lunaku olwo okuttibwa kungi okw'abasajja emitwalo ebiri (20,000). Olutalo ne lubuna ekitundu ekyo kyonna; ekibira ne kitta abantu bangi ku lunaku olwo okusinga ekitala be kyatta. Awo Abusaalomu yali yeebagadde ennyumbu ye, abaddu ba Dawudi ne bamugwikiriza nga tategedde, n'adduka; ennyumbu ye neyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omwera omunene, omutwe gwe ne gguwagamira mu matabi g'omwera ogwo, n'alengejja, ennyumbu ye n'egenda mu maaso. Ne waba omusajja eyakiraba n'abuulira Yowaabu n'ayogera nti, “Laba, ndabye Abusaalomu ng'alengejjera ku mwera.” Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti, “Oba nga omulabye kiki ekikulobedde okumufumita n'omutta? Nange nnandikuwadde ebitundu ebya ffeeza kkumi (10) n'olukoba.” Omusajja n'agamba Yowaabu nti, “Nebwewandimpadde ebitundu bye ffeeza lukumi (1,000), era sandigolodde mukono gwange ku mwana wa kabaka; kubanga twawulira bulungi kabaka nga akulagira ggwe ne Abisaayi ne Ittayi ng'agamba nti, ‘Mwegendereze tewaba akola akabi konna ku mulenzi Abusaalomu.’ Naye singa n'ajjemedde ekiragiro kya kabaka n'emutta, kabaka yandikitegedde, kubanga tewali kigambo nakimu ekikwekebwa kabaka, era naawe wennyini tewandimpolereza.” Awo Yowaabu n'ayogera nti, “Sijja kuddawo kutootatoota naawe bwe ntyo.” Kwekuddira obusaale busatu (3) n'abukuba Abusaalomu mu mutima bwe yali ng'akyali mulamu nga alengejjera ku mwera. N'abalenzi kkumi (10) abaatwalanga eby'okulwanyisa ebya Yowaabu nabo ne bajja ne bamufumita naafa. Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu ne balekera awo okuwondera Abaisiraeri, ne bakomawo, kubanga Yowaabu yabayimiriza. Ne batwala omulambo gwa Abusaalomu ne bagusuula mu bunnya obunene obwali mu kibira, ne bagutuumako entuumo y'amayinja ennene ennyo; awo Abaisiraeri ne baddukira buli muntu mu maka ge. Abusaalomu bwe yali akyali mulamu, yesimbira empagi mu kiwonvu kya kabaka; kubanga yagamba nti, “Sirina mwana kwe balijjuukirira linnya lyange.” Empagi eyo n'agituuma erinnya lye, era eyitibwa ekijjukizo kya Abusaalomu ne leero. Awo Akimaazi mutabani wa Zadoki n'ayogera nti, “Ka nziruke kaakano ntwalire kabaka ebigambo mutegeeze nga Mukama bw'amuwalanidde eggwanga ku balabe be.” Yowaabu n'amugamba nti, “Tootwale bigambo leero, naye olibitwala olulala; kubanga omwana wa kabaka afudde.” Awo Yowaabu n'agamba Omukusi nti, “Gwe oba ogenda obuulire kabaka by'olabye.” Omukusi n'akutamako mu maaso ga Yowaabu n'adduka. Awo Akimaazi mutabani wa Zadoki n'agamba Yowaabu omulundi ogwokubiri nti, “Nkwegayiridde nange ka male gadduka ngoberere Omukusi.” Yowaabu n'amugamba nti, “Mwana wange oyagalira ki okudduka nga toweebwe mpeera olw'ebigambo byo?” Akimaazi n'addamu nti, “Naye ka mmale gadduka.” Yowaabu n'amugamba nti, “Dduka.” Awo Akimaazi n'addukira mu kkubo ery'Olusenyi n'ayisa Omukusi. Dawudi yali atudde wansi w'ekisasi ekiri wakati w'emiryango ebiri. Omukuumi n'alinnya waggulu ku kisenge, mu kafo awalengererwa ak'oku wankaaki, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera omusajja ajja adduka ng'ali bw'omu. Omukuumi n'ayogerera waggulu n'abuulira kabaka. Kabaka n'agamba nti, “Oba ng'ali omu, aleese bigambo birungi.” Omuddusi neyeyongera okujja nga asembera. Omukuumi ate n'alaba omusajja ow'okubiri ng'ajja adduka yekka; omukuumi n'akoowoola omuggazi n'amugamba nti, “Ate waliwo omusajja ow'okubiri era naye adduka yekka.” Kabaka n'ayogera nti, “Era naye aleese ebigambo.” Omukuumi n'ayogera nti, “Ndaba nga omusajja akulembedde adduka nga Akimaazi mutabani wa Zadoki.” Kabaka n'ayogera nti, “Omusajja oyo mulungi n'ebigambo by'azze nabyo birungi.” Akimaazi n'akoowoola n'agamba kabaka nti, “Mirembe.” N'avuunama mu maaso ga kabaka n'agamba nti, “Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaddeyo abasajja abajeemera mukama wange kabaka.” Kabaka n'abuuza nti, “Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe?” Akimaazi n'addamu nti, “Yowaabu bwe yantuma nze omuddu wo, nnalaba okubugutana naye ne sitegeera ebyaliwo.” Awo Kabaka n'amugamba nti, “Dda ku mabbali, oyimirire awo.” N'adda ku mabbali, n'ayimirira. Awo n'Omukusi naye n'atuuka; n'ayogera nti, “Ndeetedde mukama wange kabaka ebigambo; kubanga leero Mukama awalanye eggwanga ku abo bonna abajeemera mukama wange kabaka.” Kabaka n'agamba, Omukusi nti, “Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe?” Omukusi n'addamu nti, “Abalabe ba mukama wange kabaka n'abo bonna abaamujeemera babe ng'omulenzi oyo bw'ali.” Awo kabaka n'anakuwala nnyo, n'alinnya waggulu mu kisenge ekiri waggulu ku wankaaki, n'akaaba amaziga, era n'agenda ng'akuba ebiwoobe nti, “Woowe, omwana wange Abusaalomu! omwana wange Abusaalomu! omwana wange Abusaalomu! Kale singa nze nfudde mu kifo kyo! Mwana wange Abusaalomu, mwana wange!” Awo ne babuulira Yowaabu nti, “Laba, kabaka akaaba amaziga akungubagira Abusaalomu.” Awo ku lunaku olwo essanyu ery'obuwanguzi ate nerifuuka kukungubaga eri abantu bonna; kubanga abantu bawulira ku lunaku olwo nti, “Kabaka akungubagira mutabani we.” Abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo. Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Woowe! mwana wange Abusaalomu, woowe Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!” Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'amugamba nti, “Olwaleero oswazizza abaddu bo bonna n'obamalamu amaanyi, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo; kubanga oyagala abakukyawa, n'okyawa abo abakwagala. Olwaleero olagidde ddala lwatu nti abakulu mu ggye lyo n'abaddu bo, tobalabamu mugaso. Olwaleero ntegedde nti singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe fenna nga tufudde, wandisanyuse nnyo. Kale nno situka ofulume oyogere bulungi n'abaddu bo; kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, abasajja bonna bajja kukwabuulira ekiro kino; ekyo kijja kukuviiramu akabi akasinga ke wali olabye okuva mu buto bwo n'okutuusa kati.” Awo kabaka n'asituka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti, “Laba, kabaka atudde mu mulyango;” abantu bonna ne bajja ne baakuŋŋaanira waali. Mu kiseera ekyo Abaisiraeri baali badduse nga buli muntu azeeyo mu nnyumba ye. Abantu bonna ne bakayana bokka na bokka mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti, “Kabaka Dawudi ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; naye yadduka Abusaalomu nnava mu nsi ye. Ate ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kaakano kiki ekitulobera okwogera ku kigambo eky'okukomyawo kabaka Dawudi?” Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadoki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti, “Mugambe abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe muluddewo okuwagira ekigambo eky'okukomyawo kabaka mu nnyumba ye; kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna eby'okukomyawo kabaka mu nnyumba ye bituuse gyali. Mmwe baganda bange ab'omusaayi gwange ddala. Kale lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu nnyumba ye?’ Era mugambe Amasa nti, ‘Ggwe ow'omusaayi gwange ddala, bw'otoobe mukulu wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva kati, wakiri Katonda anzite.’ ” Bw'atyo Dawudi naagonza emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ne babeera ng'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti, “Komawo ggwe n'abaddu bo bonna.” Awo kabaka n'akomawo n'atuuka ku mugga Yoludaani. Ab'ekika kya Yuda ne bagenda e Girugaali okusisinkana kabaka n'okumusomosa omugga Yoludaani. Awo Simeeyi mutabani wa Gera, Omubenyamini ow'e Bakulimu n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'abasajja ba Yuda okusisinkana ne kabaka Dawudi. N'ajja n'abasajja lukumi (1,000) Ababenyamini. Ne Ziba omuddu w'omu nnyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano (15) n'abaddu be abiri (20), ne baserengeta ku Yoludaani nga kabaka abalaba. Ne basomoka omugga okuwerekera ab'omu nnyumba ya kabaka, n'okukola buli ky'asiima. Kabaka bwe yali ng'agenda okusomoka Yoludaani, Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunama mu maaso ge. Simeeyi n'agamba nti, “Mukama wange tonvunaana musango newakubadde okujjukira ekyo ekitasaana nze omudduwo kyennakola mukama wange kabaka lwe wava mu Yerusaalemi. Era mukama wange kabaka oleme kukisiba ku mwoyo. Kubanga nze omuddu wo, mmanyi nga nnayonoona. Era olwaleero kyenvudde nzija, nga nze nsoose ab'ennyumba ya Yusufu bonna okuserengeta okusisinkana mukama wange kabaka.” Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti, “Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta?” Dawudi n'ayogera nti, “Kiki kyenina nammwe mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? Olwaleero wanaabawo anattibwa mu Isiraeri? Kuba simanyi nga nze kabaka wa Isiraeri leero?” Kabaka n'agamba Simeeyi nti, “Toofe.” Kabaka n'amulayirira. Awo Mefibosesi mutabani wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana ne kabaka; era yali tanaabanga bigere newakubadde okumwa ebirevu newakubadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe. Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amubuuza nti, “ Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi?” N'addamu nti, “Mukama wange, kabaka, nga nze omudduwo bwendi omulema n'agamba omuddu wange ateeke amatandiiko ku ndogoyi yange ngyebagale ŋŋende naawe; naye naandyamu olukwe. Nampayiriza gyoli, nze omuddu wo, mukama wange kabaka. Naye mukama wange, kabaka aliŋŋaanga malayika wa Katonda. Kale kola ekyo ky'olaba nga kirungi. Ab'omu nnyumba ya kitange baali ba kuttirwa mu maaso go, mukama wange kabaka. Naye n'ontuuza nze omuweereza wo, mu abo abaliira ku mmeeza yo. Kale nsinziira ku ki nate okusaba ekisingawo?” Awo Kabaka n'amugamba nti, “Ne bw'otooyongere kwogera bingi bwe bityo, nze ŋŋambye nti ettaka muligabane ggwe ne Ziba.” Mefibosesi n'agamba kabaka nti, “Ziba abitwale byonna kasita ggwe mukama wange kabaka okomyewo mirembe mu lubiri lwo.” Awo Baluzirayi Omugireyaadi n'aserengeta okuva e Logerimu; okuwerekera ku kabaka okusomoka Yoludaani. Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga awezzezza emyaka kinaana (80), yali mugagga nnyo era ye yawanga kabaka eby'okulya ebbanga lyonna lyeyamala e Makanayimu. Awo Kabaka n'agamba Baluzirayi nti, “Jjangu tugende ffenna, tuliirenga wamu e Yerusaalemi.” Baluzirayi n'addamu kabaka nti, “Nsigazaayo emyaka emmeka ndyoke ŋŋende naawe e Yerusaalemi? Kaakati mpezeza emyaka kinaana (80). Nkyayinza okwawula ebirungi n'ebibi? Oba okuwomerwa byendya oba bye nnywa? Wadde okuwuliriza amaloboozi g'abasajja n'abakazi abayimba? Lwaki omuddu wo azitoowerera mukama wange kabaka? Omuddu yayagala kusomoka busomosi Yoludaani okuwerekera kabaka; kale lwaki mukama wange kabaka ampa empeera eyenkanidde awo? Nkwegayiridde kkiriza omuddu wo nzireyo nfiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange n'eya mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuno, ye aba agenda naawe, mukama wange kabaka; era alimukolera kyonna ky'olisiima.” Kabaka n'addamu nti, “Kimamu ajja kugenda nange, era ndimukola kyonna ky'osiima. Era naawe kyonna ky'oyagala nkukolere, nja kukikukolera.” Abantu bonna ne basomoka Yoludaani awamu ne kabaka; kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; Baluzirayi n'addayo ewaabwe. Awo kabaka n'agenda e Girugaali, ne Kimamu n'agenda naye; ekika kyonna ekya Yuda n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri ne bagenda naye. Awo abantu bonna aba Isiraeri ne bagenda eri kabaka Dawudi ne bamubuuza nti, “Lwaki baganda baffe ab'ekika kya Yuda bakusomosezza Yoludaani, ggwe n'ab'omu nnyumba yo n'abasajja bo mu nkukuttu?” Awo ab'ekika kya Yuda bonna ne baddamu abantu ba Isiraeri nti, “Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda; lwaki ekyo kibasunguwaza? Tulina ekintu kyonna ekya kabaka kye tulidde oba alina ekirabo kyonna kyatuwadde?” Abaisiraeri nabo ne baddamu ab'omu kika kya Yuda nti, “Obwannannyini bwe tulina ku kabaka bwa mirundi kkumi (10). Era Dawudi waffe, n'okusinga bw'ali owammwe. Kale lwaki mwatunyoomye? Si ffe twasooka okuleeta ekirowoozo eky'okukomyawo kabaka waffe?” Naye ebigambo ebya b'omu kika kya Yuda byali bikambwe okusinga eby'Abaisiraeri. Awo omusajja Omubenyamini ataliimu nsa erinnya lye Seba mutabani wa Bikuli, n'afuuwa ekkondeere n'ayogera nti, “Tetulina mugabo mu Dawudi so tetulina busika mu mutabani wa Yese; Abaisiraeri mwenna, buli muntu addeyo ewaabwe!” Awo Abaisiraeri bonna ne baabulira Dawudi, ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Kyokka ab'omu kika kya Yuda ne banywerera ku kabaka waabwe, ne bagenda naye okuva ku Yoludaani okutuuka mu Yerusaalemi. Awo Dawudi n'ajja mu nnyumba ye e Yerusaalemi; kabaka n'addira abakazi ekkumi (10) abazaana be, be yali alese okukuuma ennyumba, n'abateeka mu kkomera gye yabalisizanga, naye n'ategatta nabo. Awo ne basibibwa okutuusa ku lunaku kwe baafiira nga tebalina babbaabwe. Awo kabaka n'agamba Amasa nti, “Kuŋŋaanya abasajja ba Yuda ennaku ssatu nga tezinnayitawo, naawe ojje nabo.” Awo Amasa n'agenda okukuŋŋaanya ab'ekika kya Yuda; naye n'asussa mu nnaku kabaka zeyamuwa. Dawudi n'agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli ajja kutukola akabi akasinga aka Abusaalomu ke yakola; Kale nno twala abaddu ba mukama wo omuwondere aleme okugenda mu bibuga ebiriko enkomera n'awona.” Awo abasajja ba Yowaabu, Abakeresi n'Abaperesi, n'abasajja abalala bonna ab'amaanyi, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda ne Abisaayi okuwondera Seba mutabani wa Bikuli. Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri e Gibyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowaabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'entalo ng'asibye mu kiwato kye olukoba, nga kuliko n'ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yavaayo n'ajja, ne kisowokamu ne kigwa. Yowaabu n'agamba Amasa nti, “Oli mirembe, muganda wange?” Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera. Naye Amasa n'atassaayo mwoyo eri ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; n'amufumisa ekyo olubuto n'ayiwa ebyenda bye wansi n'atamufumita lwa kubiri; Amasa n'afa. Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Seba mutabani wa Bikuli. Awo omu ku basajja ba Yowaabu n'ayogera nti, “Ayagala Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi agoberere Yowaabu.” Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Buli eyayitangawo n'amulaba, ng'ayimirira. Omusajja wa Yowaabu bwe yalaba ng'abantu bonna bayimirira, n'aggya Amasa mu luguudo, n'amutwala mu nsiko, n'amubikkako ekyambalo. Awo bwe yaggibwa mu luguudo, abantu bonna ne beyongerayo nga bagoberera Yowaabu, okuwondera Seba mutabani wa Bikuli. Awo Seba n'ayita mu bika byonna ebya Isiraeri n'atuuka mu Aberi ne mu Besumaaka, n'Ababeri bonna ne bakuŋŋaana nabo ne bamugoberera. Abasajja ba Yowaabu ne bazingiza Seba nga ali mu Aberi eky'e Besumaaka, ne batuuma entuumo ye ttaka okwetooloola bbugwe we kibuga; awo abasajja ba Yowaabu ne bakoona bbugwe bamusuule wansi. Awo omukazi ow'amagezi n'ayogerera waggulu ng'ayima mu kibuga nti, “Muwulire! muwulire! mbeegayiridde, mugambe Yowaabu nti, ‘Sembera wano njogere naawe.’ ” N'amusemberera; omukazi n'amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?” N'addamu nti, “Nze nzuuyo.” N'alyoka amugamba nti, “Wulira ebigambo eby'omuzaana wo.” N'addamu nti, “Mpulira.” Awo omukazi n'agamba nti, “Ab'edda baagambanga nti, ‘Tugende twebuuze amagezi e Yaberi.’ Era baamalirangayo ebibasobedde. Nze ndi omu ku abo abaagala emirembe era abeesigwa mu Isiraeri. Oyagala okuzikiriza ekibuga ekizadde mu Isiraeri? Lwaki oyagala okusaanyaawo abantu ba Mukama?” Yowaabu n'addamu n'ayogera nti, “Kikafuuwe, kikafuuwe nze okusaanyawo oba okuzikiriza ekibuga! Ekyo si bwe kiri wabula waliwo omusajja erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, ow'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu ajeemedde kabaka Dawudi. Kale mumuweeyo oyo yekka, olwo nja kuleka ekibuga.” Omukazi n'agamba Yowaabu nti, “Tujja kukasukira omutwe gwe nga tugubusa bbugwe.” Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'abawa amagezi. Ne basalako Seba mutabani wa Bikuli omutwe ne bagukasukira Yowaabu. Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere, basajja be ne baleka ekibuga, buli omu n'addayo ewaabwe ne Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi eri kabaka. Awo Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lyonna erya Isiraeri; ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi. Adolaamu ye yali omusolooza w'omusolo; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza; Seva ye yali omuwandiisi; ne Zadoki ne Abiyasaali be baali bakabona; ne Ira Omuyayiri naye yali kabona wa Dawudi. Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi okumala emyaka esatu (3) egiddiriraŋŋana; Dawudi ne yeebuuza ku Mukama. Kino kize lwa Sawulo ne nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga Sawulo yatta Abagibyoni. Kabaka n'ayita Abagibyoni n'ayogera nabo. Abagibyoni tebaali ba Isiraeri wabula Abamoli abasigalawo, Abaisiraeri baali bakoze nabo endagaano obutabatta; naye Sawulo olw'okulumirwa Abaisiraeri ne Yuda n'ayagala okubatta. Dawudi n'abuuza Abagibyoni nti, “Kiki kyemba mbakolera era mutango ki gwemba mbawa mulyoke musabire abantu ba Katonda omukisa?” Awo Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Oluyombo lwaffe ne Sawulo n'ab'omu nnyumba ye, teruyinza kuliyirirwa na ffeeza oba na zaabu; so tetwagala muntu yenna mu Isiraeri kuttibwa ku lwaffe.” Dawudi n'abagamba nti, “Kati mugamba ki kyemba mbakolera?” Ne bagamba kabaka nti, “Omusajja eyatusalira amagezi okutuzikiriza tuleme kubeera na kifo kyonna mu Isiraeri; batuwe abasajja musanvu (7) ku batabani be, tubawanikire mu maaso ga Mukama e Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama.” Kabaka n'ayogera nti, “Ndibawaayo.” Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo kyebalayiragana mu maaso ga Mukama. Naye kabaka n'alondamu Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya be yazaalira Sawulo; Alumoni ne Mefibosesi; ne batabani ba Merabu muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi; n'abawaayo eri Abagibyoni, ne babawanika mu maaso ga Mukama ku lusozi, bonna omusanvu (7) ne bafiira wamu. Battibwa mu nnaku z'amakungula ezisooka, we batandikira okukungula sayiri. Awo Lizupa muwala wa Aya, n'atwala ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku ntandikwa y'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatandika okutonnya n'ekuba emirambo egyo. Emisana n'ekiro n'atakkiriza binyonyi wadde ebisolo okugirya. Ne babuulira Dawudi ebyo Lizupa muwala wa Aya, omuzaana wa Sawulo, bye yakola. Dawudi n'agenda n'aggya amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we ku basajja ab'e Yabesugireyaadi, abaali bagabbye mu luguudo olw'e Besusani Abafirisuuti gye baagawanikira ku lunaku Abafirisuuti kwe battira Sawulo e Girubowa; n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we; ne bakuŋŋaanya na magumba g'abo abaawanikibwa. Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe; ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda n'ayanukula okusaba kw'Abagibyoni kwe basabira ensi. Awo Abafirisuuti ne baddamu okulwana ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be okulwana n'Abafirisuuti; Dawudi n'akoowa nnyo. Awo Isubibenobu omu ku baana b'erissajja eriwagguufu nga alina effumu ery'ekikomo erizitowa sekeri bisatu (300), era nga yeesibye ekitala ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi. Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amudduukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti, “Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri.” Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu; awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu omu ku baana be ssajja liri eriwagguufu. Awo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu; awo Erukanani mutabani wa Yaale-olegimu Omubesirekemu n'atta Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋaanga omuti ogulukirwako engoye. Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga (6) ku buli mukono n'obugere omukaaga (6) ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina (24), era naye yali mutabani we ssajja liri eriwagguufu. Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeyi muganda wa Dawudi n'amutta. Abo abaana be baali baana be ssajja liri eriwagguufu ery'e Gaasi; ne battibwa Dawudi n'abaddu be. Awo Dawudi n'ayimbira Mukama oluyimba luno, ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu gwa Sawulo; nga agamba nti, Mukama lwe lwazi lwange era ekigo kyange; era omulokozi wange, owange nze; Katonda olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga; Engabo yange, era amaanyi ag'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange; Omulokozi wange, ggwe omponya obukambwe. Naakaabiranga Mukama, asaanidde okutenderezebwa, Bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange. Kubanga amayengo ag'okufa ganzingiza, N'entiisa ey'okuzikirira nenkwata. Emiguwa egy'emagombe gyansiba, Okulumwa okw'okufa kwankwata. Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama, Weewaawo, n'akaabira Katonda wange. N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu Yeekaalu ye, Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge. Ensi yayuuguuma n'ekankana. Emisingi gy'eggulu ne ginyeenyezebwa Ne gikankanyizibwa, kubanga asunguwadde. Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, N'omuliro ogwava mu kamwa ke; Ne guwandula amanda agookya. Yakutamya eggulu n'akka, Ekizikiza ekikutte ne kiba wansi w'ebigere bye. Ne yeebagala kerubi n'adduka; Weewaawo, yalabikira ku biwawaatiro by'empewo. Yeebikka ekizikiza, ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola. Okumasamasa okwali mu maaso ge Ne kukoleeza amanda ag'omuliro. Mukama n'abwatuka ng'ayima mu ggulu, Ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye. N'alasa obusaale n'abasaasaanya; N'aweereza okumyansa n'abagoba. Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Olw'okunenya kwa Mukama, N'olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze. Yasinziira waggulu n'ankwata; N'anzigya mu mazzi amangi; N'amponya eri omulabe wange ow'amaanyi, Neri abo abaankyawa; kubanga bansinza amaanyi. Bannumba ku lunaku kwe nnalabira ennaku; Naye Mukama ye yantaasa. Yanfulumya n'andeeta mu kifo ekigazi; Namponya kubanga yansanyukira. Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Naansasula ng'ebikolwa byange ebirungi bwebyali. Kubanga nnakuumanga amakubo ga Mukama, So sivanga ku Katonda wange ne nkola ebibi. N'akwata ebiragiro bye byonna, era sivanga ku mateeka ge. Saalina musango mu maaso ge Ne nneekuuma mu butali butuukirivu bwange. Mukama kyavudde ansasula ng'obutuukirivu bwange bwe bwali, Era nga obulongoofu bwange bwe bwali mu maaso ge. Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa, Awali omuntu eyatuukirira obeera mutuukirivu; Awali omulongoofu obeera mulongoofu; Oli mukambwe eri ababi. Olokola abo abeetoowaze: Nokkakanya abamalala. Kubanga ggwe ttabaaza yange, ayi Mukama: Era Mukama ayakira mu kizikiza kyange. Ku lulwo nyanguwa okulumba eggye, Ku lwa Katonda wange nsobola okubuuka ekigo. Katonda ono ekkubo lye lyatuukirira; Ebisuubizo bya Mukama byesigibwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga. Kubanga ani Katonda wabula Mukama? Oba ani lwazi wabula Katonda waffe? Katonda ono kye kiddukiro kyange eky'amaanyi; Era afuula ekkubo lyange ery'e ddembe. Yafuula ebigere byange nga eby'ennangaazi, era n'anteeka mu bifo ebigulumivu nga ndi mugumu. Ayigiriza emikono gyange okulwana; Emikono gyange ne gisobola okuweta omutego ogw'ekikomo. Ompadde engabo ey'obulokozi bwo, Era n'obuyambi bwo bungulumizizza. Waagaziya ekkubo lyange, Ebigere byange ne bitaseerera. Nayigganya abalabe bange ne mbazikiriza; So saakyuka nate nga tebannamalibwawo. Era mbafumise ne mbamalirawo ddala ne batayinza kusituka: Weewaawo, bagudde wansi w'ebigere byange. Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana; Owangudde abo abannumba. Abalabe bange banziruse, Ne nzikiriza abo abankyawa. Baanoonya ow'okubayamba, ne wataba abawonya. Baakoowoola Mukama, kyokka n'atabaddamu. Awo ne mbasekulirasekulira ddala ne bafuuka ng'enfuufu. Nembasambirira ng'ebisooto eby'omu luguudo ne mbasaasaanya. Omponyezza empaka z'abantu bange; N'onfuula omufuzi w'amawanga; Abantu be ssimanyangako kati bampeereza. Bannaggwanga balinjeemulukukira; Nga kye bajje bawulire ebigambo baliŋŋondera. Bannaggwanga baggwaamu amaanyi, Era ne bajja nga bakankana nga bava mu bifo byabwe bye beekwekamu. Mukama mulamu; era lwazi lwange atenderezebwe; Agulumizibwe Katonda ow'olwazi olw'obulokozi bwange; Ye Katonda ampalanira eggwanga, N'ampangulira amawanga ngafuge. Amponya mu balabe bange; Weewaawo, ongulumizizza okusinga abo abannumba; Nomponya eri omusajja omukambwe. Kyennaava nkwebaza, ayi Mukama, mu mawanga, Ne nnyimba okutendereza erinnya lyo. Katonda ye awa kabaka obuwanguzi; era amukwatirwa ekisa, oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi, n'ezzadde lye emirembe gyonna. Era bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Omusajja eyagulumizibwa ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era eyayiya zabbuli za Isiraeri ezisanyusa; Omwoyo gwa Mukama gwogerera mu nze, Ekigambo kye kiri ku lulimi lwange. Katonda wa Isiraeri yayogera, Lwazi lwa Isiraeri yaŋŋamba; Omuntu afuga abantu n'obutuukirivu, Afuga ng'atya Katonda, Ali ng'akasana k'oku makya, ak'enjuba ng'evaayo, Akaaka ku ggulu okutali bire; ne katangalijja ku muddo, enkuba ng'ekedde. Mazima ennyumba yange bw'eri bw'etyo eri Katonda; Kubanga yalagaana nange endagaano ey'olubeerera, Eteredde mu byonna era ey'enkalakkalira; Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era bye nneegomba byonna, ajja kubituukiriza. Naye abatatya Katonda bonna baliba ng'amaggwa agasindikirizibwa, Kubanga tegayinza kukwatibwa na ngalo; Naye omuntu agakwasaako, kyuma na lunyago lwa ffumu; ne gokerwa awo, obutasigalawo na limu. Gano ge mannya g'abasajja ba Dawudi abalwanyi abaatiikirivu be yalina! asooka ye Yosebubasu-sebesi Omutakemoni, omukulu w'Abasatu. Era yali ayitibwa Adino Omwezeni, kubanga yalwana n'abasajja lunaana (800) be yatta omulundi gumu. Ow'okubiri ku basatu (3) abo ab'amaanyi ye Ereazaali, mutabani wa Dodayi, Dodayi mutabani wa Akoki. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abaisiraeri bonna ne badduka. Naye ye n'asituka n'atta Abafirisuuti, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo. Abaisiraeri ne bakomawo awali Ereazaali, lwa kunyaga obunyazi. Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omukalali. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjude ebijanjaalo, Abaisiraeri ne badduka Abafirisuuti abo. Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti; Mukama n'aleeta okuwangula okunene. Awo abasatu ku bakulu asatu (30) ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adulamu, mu kiseera eky'amakungula ng'ekibinja ky'Abafirisuuti kisiisidde mu kiwonvu ky'e Lefayimu. Era Dawudi yali mu mpuku mu biro ebyo n'Abafirisuuti ab'omu kigo baali mu Besirekemu. Awo Dawudi n'ayagala okunywa ku mazzi, n'agamba nti, “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunya agava mu luzzi olw'e Besirekemu, oluli ku wankaaki!” Abasajja abo abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwalira Dawudi; naye Dawudi n'agaana okuganywako, naye n'agayiwa ku ttaka okuba ekiweebwayo eri Mukama. N'agamba nti, “Kikafuuwe, ayi Mukama, nze okunywa amazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima!” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo abasajja abasatu (3) ab'amaanyi bye baakola. Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja asatu (30) ab'amaanyi. Y'agalula effumu lye okulwana n'abasajja bisatu (300) n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu asatu (30). Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu (3). Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri owa Mowaabu bombi; era lumu mu biseera eby'omuzira yekka mu bunnya n'atta empologoma; era yatta Omumisiri, omusajja omulungi. Omumisiri yali akutte effumu mu mukono gwe; Benaya nga alina omuggo n'aserengeta eri Omumisiri, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri n'amutta. Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi. Yasinga ekitiibwa abo asatu (30) naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi. Abalala ku basajja asatu (30) be bano: Asakeri muganda wa Yowaabu; Erukanani mutabani wa Dodo Omubesirekemu; Samma Omukalodi; Erika Omukalodi; Kerezi Omupaluti, Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa; Abiyezeeri Omwanasosi, Mebunnayi Omukussai; Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa; Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow'e Gibeya eky'abaana ba Benyamini; Benaya Omupirasoni, Kiddayi ow'oku bugga obw'e Geyaasi; Abi-aluboni Omwalubasi, Azumavesi Omubalukumi; Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani; Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali; Erifereti mutabani wa Akasubayi omwana w'omu Maakasi, Eriyamu mutabani wa Akisoferi Omugiro; Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi; Igali mutabani wa Nasani ow'e Zoba, Bani Omugaadi; Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, abaasitulanga eby'okulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya; Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli; ne Uliya Omukiiti; bonna awamu baali asatu mu musanvu (37). Awo Mukama nate n'asunguwalira Isiraeri, n'apikiriza Dawudi agende abale abantu ba Isiraeri n'aba Yuda. Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti, “Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gwabwe.” Yowaabu n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe; wabula mukama wange kabaka lwaki asanyukira ekintu ekyo?” Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ekya Yowaabu n'abakulu b'eggye. Awo Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka ne bagenda okubala abantu ba Isiraeri. Ne basomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri, ku luuyi olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'okutuuka e Yezeeri; ne balyoka batuuka e Gireyaadi ne mu nsi ey'e Tatimu-kodusi; ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni, ne batuuka ku kigo eky'e Ttuulo, ne mu bibuga byonna eby'Abakiivi n'eby'Abakanani; ne bamalira ku bukiikaddyo obwa ddyo obwa Yuda e Beeruseba. Awo bwe baamala okuyitaayita mu nsi yonna, ne bakomawo e Yerusaalemi nga wayise emyezi mwenda n'ennaku abiri. Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu be babala: mu Isiraeri mwalimu abasajja abazira abayinza okulwana obusiriivu munaana (800,000), ne mu Yuda obusiriivu butaano (500,000). Awo Dawudi bwe yamala okubala abantu, omwoyo gwe ne gumuluma. Dawudi n'agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze, naye kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, sonyiwa obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo.” Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'akyogera nti, “Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkutereddewo ebintu bisatu; weerobozeeko ekimu kyemba nkukola.’ ” Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amubuulira, n'amugamba nti, “Ku bisatu olondako kiruwa? Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu (7), oba ggwe okumala emyezi esatu (3) ng'odduka abalabe bo abakuyigganya, oba okugwirwa kawumpuli mu nsi yo okumala ennaku ssatu (3)? Lowooza olondeeko kye nnaddiza oyo antumye.” Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri nno tugwe mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy'abantu.” Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka mu biro ebyateekebwawo; awo ku bantu ne kufaako abasajja emitwalo musanvu (70,000) okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba. Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti, “Kinaamala.” Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi. Awo Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta n'agamba Mukama nti, “Nze nnyonoonye ne nkola eby'obubambaavu; naye abantu bano bbo bakoze ki? Nkwegayiridde bonereza nze n'abennyumba ya kitange.” Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi ku lunaku olwo n'amugamba nti, “Genda ozimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.” Awo Dawudi n'agenda nga Mukama bwe yalagira nga ayita mu Nnabbi Gaadi. Awo Alawuna n'alengera kabaka n'abaddu be nga bajja gyali. Alawuna n'afuluma n'avuunamira kabaka. Awo Alawuna n'abuuza nti, “Kiki ekireese Mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n'agamba nti, “Ekindeese njagala onguze egguuliro lyo, nzimbire mu Mukama ekyoto. Kawumpuli aziyizibwe mu bantu.” Awo Alawuna n'agamba Dawudi nti, “Mukama wange, kabaka, twala oweeyo eri Mukama buli ky'olaba nga kirungi. Ente ziizino, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiwuula era n'amatandiiko g'ente bibeere enku. Bino byonna, ayi kabaka, Alawuna abiwa kabaka.” Alawuna n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo akkirize ekiweebwayo kyo.” Kabaka n'agamba Alawuna nti, “Nedda. Nja kubikugulako buguzi, omuwendo gw'onoolamula. Sijja kuwaayo eri Mukama Katonda wange ebiweebwayo ebyokebwa bye siguze.” Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ezo ku muwendo gwa bitundu bya ffeeza ataano (50). Awo Dawudi n'azimbira Mukama ekyoto, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. Awo Mukama n'awulira Dawudi byeyasabira ensi, kawumpuli n'aziyizibwa. Awo kabaka yali akaddiye nnyo ng'akootakoota; ne bamubikkangako engoye naye era n'atabuguma. Abaddu be kyebaava bamugamba nti Mukama wange kabaka katukunoonyeze omuwala omuto embeerera ayimirirenga mu maaso go akuweereze; era agalamirenga mu kifuba kyo, mukama wange kabaka obugumenga. Awo ne banoonya mu nsi yonna eya Isiraeri, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka. Omuwala yali mulungi nnyo; n'aweerezanga kabaka n'amujjanjabanga; naye kabaka n'ategatta naye. Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi ne yeekulumbaza n'ayogera nti Nze ndiba kabaka: ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja ataano (50) okumukulemberangamu. Kitaawe n'atamunenyako n'akatono wadde okumubuuza ekimukozezza bw'atyo. Adoniya yali musajja mulungi nnyo; era ye yaddanga ku Abusaalomu. N'ateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona okumuwagira, era ne bamuyamba. Wabula Zadoki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ne Nasani nnabbi ne Simeeyi ne Leeyi n'abasajja ab'amaanyi aba Dawudi bo tebaamuwagira. Adoniya n'atta endiga n'ente n'ebya ssava awali ejjinja Zokeresi eririraanye e Enerogeri: n'ayita baganda be bonna abaana ba kabaka, n'abasajja ba Yuda bonna abaddu ba kabaka: naye Nasani nnabbi ne Benaya n'abasajja ab'amaanyi ne Sulemaani muganda we n'atabayita. Awo Nasani n'agamba Basuseba nnyina Sulemaani ng'amubuuza nti Owulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi bw'alidde obwakabaka nga Dawudi mukama waffe nga takimanyi? Kale nkwegayiridde, jjangu nkuwe amagezi, owonye obulamu bwo ggwe n'obulamu bwa mutabani wo Sulemaani. Genda eri kabaka Dawudi, omubuuze nti Mukama wange, ayi kabaka, tewandayirira nze muzaana wo nti mutabani wange Sulemaani yalirya obwakabaka ggwe ng'ovuddewo era nga yalituula ku ntebe yo? Kale ate Adoniya afuna atya obwakabaka? Awo bw'onooba ng'okyayogera nange wennayingirira ne nnyweza ebigambo byo. Awo Basuseba n'ayingira eri kabaka mu kisenge: kabaka yali akaddiye nnyo; nga Abisaagi Omusunammu nga yamuweereza. Awo Basuseba n'akutama n'avuunamira kabaka. Kabaka n'amubuuza nti Oyagala ki? Basuseba n'addamu nti Mukama wange nze omuzaana wo, wandayirira nti mutabani wange Sulemaani yalikusikira, era nga yalituula ku ntebe yo ey'obwakabaka. Naye kaakano Adoniya y'afuuse kabaka naawe mukama wange nga tomanyi: era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu omukulu w'eggye: naye Sulemaani omuddu wo tamuyise. Naawe, mukama wange kabaka, aba Isiraeri bakutunulidde ggwe obabuulire ow'okukusikira ku bwakabaka ng'ovuddewo. Bw'otookole bw'otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw'alyebakira awamu ne bajjajjaabe, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa balimba. Kale, laba, bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n'ayingira. Ne babuulira kabaka nti Laba, Nasani nnabbi azze. Awo bwe yayingira mu maaso ga kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka. Nasani n'abuuza kabaka nti Ayi Mukama wange, kabaka, ggwe wagamba nti Adoniya yalirya obwakabaka ng'ovuddewo era nga yalituula ku ntebe yo? Kubanga aserengese leero, era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye ne Abiyasaali kabona; era, laba, balya era banywera mu maaso ge, nga boogera nti Kabaka Adoniya awangaale. Naye nze, nze omuddu wo, ne Zadoki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'omuddu wo Sulemaani tatuyise. Mukama wange kabaka gw'okoze ekigambo ekyo nga totegeezezza na ku baddu bo alikusikira ng'ovuddewo? Awo kabaka Dawudi n'addamu n'agamba nti Mpitira Basuseba n'ajja n'ayimirira mu maaso ga kabaka. Kabaka n'alayira n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange okugiggya mu kabi konna, mazima nga bwe nnakulayirira Mukama, Katonda wa Isiraeri, nga njogera nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange mu kifo kyange; mazima bwe ntyo bwe nkulayirira ne leero. Awo Basuseba ne yeeyanza ng'ayogera nti Mukama wange kabaka Dawudi awangaale. Kabaka Dawudi n'ayogera nti Mpitira Zadoki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada; ne bajja mu maaso ga kabaka. Kabaka n'abagamba nti Mutwale wamu nammwe abaddu ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange nze, mumuserengese e Gikoni: kale Zadoki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: mufuuwe ekkondeere mulangirire nti Kabaka Sulemaani awangaale. Mulyoke mukomewo nga mumugoberera mu mutuuze ku ntebe yange abeere kabaka mu kifo kyange: era mmutaddewo okuba omufuzi wa Isiraeri ne Yuda. Benaya mutabani wa Yekoyaada n'addamu kabaka n'ayogera nti Amiina: Mukama, Katonda wa mukama wange kabaka, akikakase. Nga Mukama bwe yabanga ne mukama wange kabaka, era abeerenga ne Sulemaani, afuule entebe ye enkulu okusinga entebe ya mukama wange kabaka Dawudi. Awo Zadoki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi ne baserengeta ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya kabaka Dawudi ne bamuleeta e Gikoni. Awo Zadoki kabona n'aggya ejjembe ery'amafuta mu Weema, n'afuka amafuta ku Sulemaani. Ne bafuuwa ekkondeere; abantu bonna ne boogera nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu. Abantu bonna ne bambuka okumugoberera, abantu ne bafuuwa endere, ne basanyuka essanyu lingi, ettaka n'okwatika ne lyatika olw'oluyoogaano lwabwe. Adoniya n'abagenyi bonna abaali naye ne baluwulira bwe baali nga bamala okulya. Awo Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'abuuza nti Okuyoogaana okwo kwonna mu kibuga kwaki? Bwe yali ng'akyabuuza, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n'ajja: Adoniya n'ayogera nti Yingira; kubanga oli musajja mulungi, era oleese ebigambo ebirungi. Yonasaani n'addamu n'agamba Adoniya nti Mazima mukama waffe kabaka Dawudi afudde Sulemaani kabaka: era kabaka atumye naye Zadoki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi, era amwebagaza ku nnyumbu ya kabaka: era Zadoki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni: era bambuse okuvaayo nga basanyuka n'okuwuuma ekibuga ne kiwuumira ddala. Eryo lye ddoboozi lye muwulidde. Era Sulemaani atudde ku ntebe y'obwakabaka. Era nate abaddu ba kabaka bazze okusabira mukama waffe kabaka Dawudi nga boogera nti Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani eddungi okusinga erinnya lyo, era afuule entebe ye enkulu okusinga entebe yo: kabaka n'akutamira ku kitanda kye n'asinza nti, Mukama, Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, ataddewo olwaleero ow'okutuula ku ntebe yange ey'obwakabaka, era n'anzikiriza okuba omulamu okulaba ekyo. Awo abagenyi ba Adoniya bonna be yayita ne batya, ne basituka, ne bagenda buli omu n'akwata lirye. Adoniya olw'okutya ennyo Sulemaani n'asituka n'agenda ne yeekwata ku mayembe ag'ekyoto. Ne babuulira Sulemaani nti Adoniya akutidde, ayi kabaka Sulemaani, era wuuli yekutte ku mayembe ag'ekyoto, ng'ayogera nti Kabaka Sulemaani andayirire olwaleero nga tajja kunzita nze omuweereza we. Sulemaani n'agamba nti Bw'aneeyisa obulungi, tewali wadde oluviiri lwe olumu olunagibwa ku mutwe gwe. Kyokka bw'ali zuulibwa nga yeeyisa bubi, olwo alittibwa. Awo kabaka Sulemaani n'atuma, ne baggya Adoniya ku kyoto. Adoniya n'ajja n'avuunamira kabaka Sulemaani. Sulemaani n'amugamba nti Genda ewuwo. Awo Dawudi bwe yali nga anaatera okufa; n'akuutira mutabani we Sulemaani nti, Nze ŋŋenda bonna ab'omu nsi gye bagenda; obeeranga musajja wa maanyi era omumalirivu; era okwatanga Mukama Katonda wo bye yakukuutira, okutambuliranga mu makubo ge, okukwatanga amateeka ge, n'ebiragiro bye, n'ebyo bye yategeeza, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke olabenga omukisa mu byonna by'onookolanga, na buli gy'onoogendanga: Mukama anyweze ekigambo kye kye yayogera ku nze nti Abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu maaso gange mu mazima n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna, tewaabulenga musajja ava mu nnyumba yo afuga Isiraeri. Era omanyi n'ekyo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abakulu b'eggye lya Isiraeri ababiri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri, be yattira mu kiseera eky'emirembe nga tewali lutalo nga yesasuza olw'ebyo bye bakola mu ntalo ezaayita; n'anteekako omusango ogw'okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Omanyi eky'okumukolera, toganyanga omutwe gwe oguliko envi okugenda emagombe mu mirembe; omuttanga. Naye okolanga bulungi batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi, era babenga ku abo abanaaliranga ku mmeeza yo: kubanga bankwatirwa ekisa bwe nali nziruka muganda wo Abusaalomu. Era, laba, waliwo ne Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow'e Bakulimu, eyankolimira ekikolimo ekizibu ku lunaku kwe nnagendera e Makanayimu: naye bweyajja okunsisinkana ku Yoludaani ne mmulayirira mu linnya lya Mukama nga Sirimutta na kitala. Manya nti aliko omusango, nga bwoli omusajja omugezi omanyi eky'okumukolera; toganyanga omutwe gwe oguliko envi okugenda e emagombe mu mirembe, omuttanga. Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi. Dawudi yafugira Isiraeri emyaka ana (40), yafugira e Kebbulooni emyaka musanvu (7), n'afugira e Yerusaalemi emyaka asatu mu esatu (33). Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ya Dawudi kitaawe; obwakabaka bwe ne bunywerera ddala. Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi n'ajja eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n'amubuuza nti Ozze mirembe? N'addamu nti Mirembe. Adoniya n'ayogera nti Ndiko kye njagala okukubuulira. Basuseba n'ayogera nti Mbuulira. Adoniya n'ayogera nti Omanyi ng'obwakabaka bwali bwange era n'aba Isiraeri bonna baali balindiridde nze mbulye: naye obwakabaka bukyuse ne bufuuka bwa muganda wange: kubanga bwali bubwe okuva eri Mukama. Kale nno nkusaba ekigambo kimu, nkwegayiridde tokigaana. N'amugamba nti Kyogere. N'ayogera nti Nkwegayiridde, nsabira kabaka Sulemaani, kubanga ggwe tajja kukugana, ampe Abisaagi Omusunammu muwase. Basuseba n'amuddamu nti Kale; nnaakwogererayo eri kabaka. Basuseba kyeyava agenda eri kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya. Kabaka n'asituka okusisinkana nnyina, n'amuvuunamira, n'alyoka atuula mu ntebe ye. N'alagira ne baleetera nnyina entebe, ne bagissa ku mukono ggwe ogwa ddyo, nnyina naatulako. Nnyina n'ayogera nti Nkusaba ekigambo kimu kitono naye tokigaana. Kabaka n'amugamba nti, Mmange kisabe sikigaane. Basuseba n'agamba nti Adoniya mugandawo muwe Abisaagi Omusunammu amuwase. Kabaka Sulemaani n'addamu nnyina nti Lwaki osabira Adoniya okuweebwa Abisaagi Omusunammu? Musabire nno n'obwakabaka, kubanga ye mukulu wange, ate nga ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, bali ku ludda lwe. Awo kabaka Sulemaani n'alayira Mukama nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga ekigambo Adoniya kyayogedde tekimusse. Nga Mukama bw'ali omulamu, ontuuziza ku ntebe ya Dawudi kitange, era awadde ennyumba yange obwakabaka nga bwe yasuubiza, mazima, leero, Adoniya anattibwa. Awo kabaka Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada, n'agenda n'atta Adoniya. Kabaka n'agamba Abiyasaali kabona nti Genda e Anasosi mu byalo byo; kubanga osaanidde okuttibwa: naye siikutte kaakano, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama Katonda mu biro bya Dawudi kitange, era kubanga wabonyaabonyezebwa wamu naye mu byonna. Awo Sulemaani n'agoba Abiyasaali ku bwa kabona bwa Mukama; atuukirize ekigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Eri mu Siiro. Ebigambo ebyo ne bituuka eri Yowaabu: kubanga Yowaabu yali akyuse okugoberera Adoniya, newakubadde nga teyagoberera Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, n'akwata ku mayembe g'ekyoto. Ne babuulira kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era laba, ali ku kyoto. Awo Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada n'amugamba nti Genda omutte. Benaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'agamba Yowaabu nti Kabaka akulagidde nti Fuluma. Yowaabu n'addamu nti Nedda nja kufiira wano. Benaya n'addiza kabaka ebigambo Yowaabu byayogedde. Awo kabaka n'agamba Benaya nti Kola nga bw'agambye. Mutte, omuziike, nze n'ab'ennyumba ya kitange tuleme kuvunaanibwa lwa bantu Yowaabu be yatta nga tebalina musango. Era Mukama alibonereza Yowaabu olwabasajja ababiri Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Isiraeri ne Amasa mutabani wa Yeseri omukulu w'eggye lya Yuda, abamusinga obulungi n'obutuukirivu beyatta n'ekitala kitange Dawudi n'atakimanya. Bwe gutyo omusaayi gwabwe gulidda ku mutwe gwa Yowaabu ne ku mutwe gw'ezzadde lye ennaku zonna: naye eri Dawudi n'eri ezzadde lye n'eri ennyumba ye n'eri entebe ye eribaayo emirembe ennaku zonna okuva eri Mukama. Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n'agenda n'amutta Yowaabu; ne bamuziika mu nnyumba ye mu ddungu. Awo kabaka n'assaawo Benaya mutabani wa Yekoyaada okuba omukulu w'eggye mu kifo kye: kabaka n'assaawo Zadoki kabona mu kifo kya Abiyasaali. Kabaka n'atumya Simeeyi n'amugamba nti Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi, obeere omwo, naye tovangayo kugenda walala wonna. Naye tegeerera ddala nga ku lunaku lw'olivaayo n'osomoka akagga Kidulooni, lw'olittibwa: n'omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe. Simeeyi n'agamba kabaka nti Ekigambo ekyo kirungi: nga mukama wange kabaka bw'ayogedde, bw'atyo omuddu wo bw'alikola. Simeeyi n'abeera mu Yerusaalemi okumala ebbanga ddene. Oluvannyuma lwe myaka esatu, abaddu ba Simeeyi babiri ne batoloka ne bagenda eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w'e Gaasi. Ne babuulira Simeeyi nti Abaddu bo bali Gaasi. Simeeyi n'asituka n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be: bweyatuukayo n'abaggyayo. Ne babuulira Sulemaani nti Simeeyi yava e Yerusaalemi n'agenda e Gaasi era yakomawo. Kabaka n'atumya Simeeyi n'amugamba nti Saakulayiza Mukama ne nkukuutira nti ku lunaku lw'oliva e Yerusaalemi n'otambula okugenda e Yerusaleemi, Tolirema kufa? n'oddamu nti Ekigambo kye mpulidde kirungi. Kale kiki ekikulobedde okwekuuma ekirayiro kya Mukama n'ekirayiro kye nnakulagira? Era kabaka n'agamba Simeeyi nti Omanyi obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange, omutima gwo bwe gutegeera: Mukama kyanaava akubonereza. Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, n'entebe ya Dawudi erinywezebwa mu maaso ga Mukama ennaku zonna. Awo kabaka n'alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada; n'agenda n'atta Simeeyi. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani. Awo Sulemaani n'afuuka mukoddomi wa Falaawo kabaka w'e Misiri bwe yawasa muwala we, n'amuteeka mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye ye, n'ennyumba ya Mukama, ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi. Okutuusa mu biro ebyo, abantu baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga waali tewanaba kuzimbibwawo nnyumba ya kusinzizaangaamu Mukama. Sulemaani yayagala Mukama, ng'atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe: kyokka, naye yaweerangayo ssaddaaka era yanyokerezanga obubaane mu bifo ebigulumivu. Awo kabaka n'agenda e Gibyoni okuwaayo ssaddaaka; kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekikulu: n'aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezokebwa lukumi. Mukama n'alabikira Sulemaani e Gibyoni mu kirooto ekiro: Katonda n'amugamba nti Saba kye mba nkuwa. Sulemaani n'ayogera nti Wamukola bulungi nnyo omuddu wo Dawudi kitange, nga bwe yatambula mu maaso go mu mazima ne mu butuukirivu ne mu bugolokofu bw'omutima wamu naawe; era wamuterekera ekisa kino ekinene kubanga omuwadde omwana ow'okutuula ku ntebe ye, nga bwe kiri leero. Era kaakano, ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo kabaka mu kifo kya Dawudi kitange: nange ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira. Era omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga eddene, ery'abantu abangi abatayinza kubalika. Kale muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy'abantu bo, njawulemu ebirungi n'ebibi: kubanga ani ayinza okusala emisango gy'eggwanga lyo lino ekkulu? Awo ebigambo ebyo ne bisanyusa Mukama, kubanga Sulemaani asabye ekyo. Katonda n'amugamba nti Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala; teweesabidde bugagga, so teweesabidde bulamu bwa balabe bo: naye weesabidde amagezi okusalanga emisango: Kale, nkoze ng'ekigambo kyo bwe kiri: nkuwadde amagezi n'okutegeera; obutabaawo akwenkana abo abakusooka era ne mu abo abalikuddirira. Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye, obugagga n'ekitiibwa, obutabangawo kabaka mulala yenna akwenkana ennaku zonna ez'obulamu bwo. Era bw'onootambuliranga mu makubo gange, okukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yatambula, awo ndyongera ku nnaku zo. Awo Sulemaani n'azuukuka n'amanya nga kibadde kirooto: n'ajja e Yerusaalemi n'ayimirira mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo eby'emirembe, n'afumbira abaddu be bonna embaga. Awo lwali lumu, abakazi ababiri abenzi ne bagenda mu maaso ga kabaka ne bayimirira mu maaso ge. Omu ku bo n'ayogera nti Ayi mukama wange, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu; olwali olwo n'azaala omwana, olwali olwo nange nenzaala omwana nga ndi wamu naye mu nnyumba omwo. Awo olwatuuka nga nnaakamaze ennaku ssatu okuzaala, omukazi ono n'azaala naye; era twali wamu; tewaali mugenyi wamu naffe mu nnyumba, wabula ffe ffembi mu nnyumba. Awo omwana w'omukazi ono n'afa ekiro; kubanga yamwebakira. Awo mu ttumbi n'agolokoka n'aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nga neebase, n'amuteeka mu kifuba kye, n'addira owuwe afudde n'amuteeka mu kifuba kyange. Awo bwe n'agolokoka enkya okuyonsa omwana wange, nnendaba ng'afudde naye bwe nneetegereza nnendaba nga si ye mwana wange gwe nnazaala. Omukazi oli omulala n'agamba nti Nedda, omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo. N'ono n'agamba nti Nedda, omufu ye mwana wo, omulamu ye mwana wange. Ne bakaayana bwe batyo mu maaso ga kabaka. Awo kabaka n'ayogera nti Omu agamba nti Omwana omulamu ye wange, n'omufu ye mwana wo: n'omulala agamba nti Omu ye wa munne, omulamu ye wuwe. Awo kabaka n'ayogera nti Mundeetere ekitala. Ne bakireeta. Awo kabaka n'agamba nti Musaleemu omwana omulamu, omu mumuweko ekitundu n'omulala ekitundu. Awo nnyina w'omwana omulamu omwoyo ne gumulumira omwana we, n'agamba kabaka nti Mukama wange, omwana temumutta. Mumuwe munnange. Naye omukazi oli omulala n'agamba nti Temubaako n'omu kuffe gwe mumuwa, mumusalemu. Awo kabaka n'agamba nti Omwana temumutta, mumuwe omukazi eyasoose, ye nnyina. Isiraeri yenna n'awulira nga kabaka bwasaze omusango ogwo; ne batya kabaka ne bategeera nga Katonda yali amuwadde amagezi ag'okusalanga emisango. Awo kabaka Sulemaani n'aba kabaka wa Isiraeri yenna. Era bano be bakulu be yalina; Azaliya mutabani wa Zadoki, kabona; Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, abawandiisi; Yekosafaati mutabani wa Akirudi, omujjukiza; ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'eggye; ne Zadoki ne Abiyasaali be baali bakabona; ne Azaliya mutabani wa Nasani ye yali omukulu w'abaami; ne Zabudi mutabani wa Nasani ye yali kabona, mukwano gwa kabaka; Akisaali ye yali akulira abaweereza b'omu lubiri. Adoniraamu mutabani wa Abuda ye yali nnampala w'abakozesebwa n'obuwaze. Era Sulemaani yalina abaami kkumi na babiri (12) abaakuliranga Isiraeri yenna, abaaleeteranga kabaka n'ab'omu nnyumba ye eby'okulya, nga buli omu ku bo kimugwanira okusolooleza omwezi gumu buli mwaka. Ne gano ge mannya gaabwe: Benikuli, mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu: Benidekeri, mu Makazi, ne mu Saalubimu ne mu Besusemesi ne mu Eronubesukanani: Benikesedi, mu Alubbosi; Soko kyali kikye, n'ensi yonna ey'e Kefera: Beniyabinadabu, mu kifo kyonna ekigulumivu eky'e Doli; ye yafumbirwa Tafasi muwala wa Sulemaani: Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, n'e Besuseyani ekiri ku mabbali g'e Zalesani, wansi w'e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola, okuyita ku Yokumeyamu: Benigeberi, mu Lamosugireyaadi; ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase ebiri mu Gireyaadi byali bibye; essaza Alugobu eriri mu Basani lyali lirye, ebibuga ebinene nkaaga (60) ebyalina bbugwe n'ebisiba eby'ebikomo: Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu: Akimaazi, mu Nafutaali; naye yafumbirwa Basemasi muwala wa Sulemaani: Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi: Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali: Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini: Geberi mutabani wa Uli, mu nsi ya Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w'Abamoli ne Ogi kabaka w'e Basani; naye yali omwami yekka eyali mu nsi. Yuda ne Isiraeri baali bangi, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi, nga balya era nga banywa era nga basanyuka. Awo Sulemaani n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey'Abafirisuuti, n'okutuuka ku nsalo ey'e Misiri: era baaleetanga ebirabo ne baweerezanga Sulemaani ennaku zonna ez'obulamu bwe. Awo eby'oku lunaku olumu bye baasoloolezanga Sulemaani byali ebigero eby'obutta obulungi asatu (30), n'ebigero eby'obutta nkaaga (60); ente eza ssava kkumi (10), n'ente ezaava mu ddundiro abiri (20), n'endiga kikumi (100), obutassaako njaza na mpeewo na nnangaazi na nkoko ze baasavuwazanga. Sulemaani yafuganga ensi yonna eri emitala w'Omugga Fulaati, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afuga bakabaka bonna abaali emitala w'Omugga Fulaati: yalina emirembe mu njuyi zonna ezimwetooloodde. Yuda ne Isiraeri bonna ne batuula mirembe ennaku zonna eza Sulemaani. Buli muntu ng'alina ennimiro ye ey'emizabbibu n'emitiini okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba. Era Sulemaani yalina ebisibo by'embalaasi emitwalo ena (40,000) olw'amagaali ge, n'abasajja abeebagala embalaasi omutwalo mu enkumi bbiri (12,000). Abaami abo ekkumi n'ababiri (12) be baaleeteranga kabaka Sulemaani eby'okulya ne bonna abaaliiranga ku mmeeza ye, buli mwami mu mwezi gwe, nga tebaaganya kintu kyonna kubulawo. Era baaleetanga ne sayiri n'essubi olw'embalaasi n'ensolo ez'embiro mu kifo abaami gyebali, buli muntu ng'omulimu bwe gwali gwe yalagirwa. Katonda n'awa Sulemaani amagezi n'okutegeera kungi nnyo, n'obugazi bw'okumanya, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja. Amagezi ga Sulemaani ne gakira amagezi gonna ag'abaana b'ebuvanjuba, n'amagezi gonna ag'e Misiri. Kubanga yakira abantu bonna amagezi; yakira Esani Omwezulaki ne Kemani ne Kalukoli ne Daluda, batabani ba Makoli: erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. Yagera engero enkumi ssatu (3,000), n'ayiiya ennyimba lukumi mu ttaano (1,005). N'ayogera ku miti, okuva ku muvule oguli ku Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe: yayogera ne ku nsolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja. Amawanga gonna ne gajja okuwulira amagezi ga Sulemaani nga bava eri bakabaka bonna abaali bawulidde ku magezi ge. Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo bwe yawulira nga bafuse amafuta ku Sulemaani okuba kabaka mu kifo kya kitaawe: n'amutumira abaddu be kubanga ng'okuva edda Kiramu yali mukwano gwa Dawudi. Sulemaani n'atumira Kiramu ng'ayogera Omanyi Dawudi kitange nga teyayinza kuzimbira Mukama Katonda we Yeekaalu olw'entalo ezaamwetooloola enjuyi zonna, okutuusa Mukama lwe yamuwanguza abalabe be bonna. Naye kaakano Mukama Katonda wange ampadde emirembe enjuyi zonna, tewali mulabe newakubadde akabi akajja. Era, laba, nteesezza okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange nti Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe yo ng'adda mu bigere byo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba. Kale nno lagira abaddu bo bantemere emivule egy'e Lebanooni; nga bakolera wamu n'abaddu bange. Abaddu nja kubawa empeera nga bw'onooyagala mbawe kubanga nga bw'omanyi eno ewaffe teri bamanyi kutema miti nga Abasidoni. Awo olwatuuka Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Sulemaani, n'asanyuka nnyo n'ayogera nti Mukama yeebazibwe leero awadde Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu. Awo Kiramu n'atumira Sulemaani ng'ayogera nti Mpulidde byonna by'ontumidde eby'emiti egy'emivule n'emiti egy'emiberosi nja kukola byonna nga bw'oyagala. Abaddu bange baligiggya e Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja: ndigisiba mu binywa ne giseyerera ku nnyanja okutuuka mu kifo ky'olindaga olwo ndiragira okugisumululira eyo ne bagikuwa. Nze kye njagala okole kwe kuwanga abantu emmere. Awo Kiramu n'awa Sulemaani emiti gyonna egy'emivule n'emiberosi Sulemaani gye yayagala. Buli mwaka Sulemaani n'awanga Kiramu ebigero by'eŋŋaano emitwalo ebiri (20,000) n'amafuta amalongoose ebigero abiri (20) okuliisanga abaddu be. Mukama n'awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza; ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, bombi ne balagaana endagaano. Kabaka Sulemaani n'alagira ne bakuŋŋaanya abasajja emitwalo esatu (30,000) okuva mu Isiraeri yenna. N'abasindikanga mu mpalo e Lebanooni nga buli mwezi aweerezayo omutwalo gumu. Baamalanga e Lebanooni omwezi gumu ate ne baddayo ewaabwe emyezi ebiri. Adoniraamu ye yali omukulu w'abo bonna abakuŋŋanyizibwa. Sulemaani yalina abasajja abaasitulanga emigugu emitwalo musanvu (70,000), abalala emitwalo munaana (80,000) be batemanga amayinja okuva ku nsozi; obutassaako baami ba Sulemaani abakulu abaalabiriranga omulimu, enkumi ssatu mu bisatu (3,300), abaafuganga abantu abaakolanga omulimu. Kabaka n'alagira okuleeta amayinja amanene ag'omuwendo ne bagateeka mu musingi gwamu n'amayinja amabajje. Abazimbi ba Sulemaani n'aba Kiramu n'aba Gebali ne balongoosa amayinja ago ne bategeka n'emiti n'amayinja eby'okuzimba Yeekaalu. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ebina mw'ekinaana (480) abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwaka ogwokuna Sulemaani kasookedde afuga Isiraeri, mu mwezi Zivu gwe mwezi ogwokubiri, n'atandika okuzimba ennyumba ya Mukama. Ennyumba kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama, obuwanvu bwayo bwali emikono nkaaga (60), n'obugazi bwayo emikono abiri (20), n'obugulumivu bwayo emikono asatu (30). N'ekisasi ekyali mu maaso ga Yeekaalu ya Mukama, obuwanvu bwakyo bwali emikono abiri (20), ng'obugazi bwakyo bwali emikono kkumi (10). N'akola mu nnyumba amadirisa ag'ebituli agataggulwa. Ku kisenge eky'ebweru mu mbiriizi n'emabega w'ennyumba ya Mukama n'akokerako ekizimbe ekya kalina ssatu okugyetooloola: enju eya wansi obugazi bwayo emikono etaano, n'eya wakati obugazi bwayo emikono mukaaga, n'ey'okusatu obugazi bwayo emikono musanvu: kubanga ku kisenge ky'ennyumba ebweru okwetooloola emiti yagisalako gireme kuyingira mu kisenge ky'ennyumba. N'ennyumba bwe baali bagizimba yazimbibwa n'amayinja agalongoosezzebwa gye bagabajjira: so tewaali nnyondo newakubadde embazzi newakubadde ekintu kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu nnyumba bwe baali bagizimba. Oluggi oluyitibwamu okuyingira mu bisenge ebya wansi ebyazimbibwa ku mabbali ga Yeekaalu, lwali ku ludda olwa ddyo olwa Yeekaalu. Waaliwo amadaala ageenyoolanyoola agalinnyirwangako okugenda mu bisenge eby'omukalina esooka n'ey'okubiri. Bw'atyo bwe yazimba ennyumba, n'agimala; ennyumba n'agibikkako emiti n'embaawo ez'emivule. N'azimba ennyumba eya kalina ssatu okwetooloola Yeekaalu, buli kalina nga obugulumivu bwayo emikono etaano, nga ziyungiddwa ku Yeekaalu n'emiti egy'emivule. Ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nga kyogera Ku bye nnyumba eno gy'ozimba, bw'onootambuliranga mu mateeka gange n'otuukiriza bye nnakukuutira, n'okwata ebiragiro byange byonna okubitambulirangamu: kale naanywezanga ekigambo kyange naawe, kye nnagamba Dawudi kitaawo. Era nnaabeeranga mu baana ba Isiraeri, so sibalekenga. Awo Sulemaani n'azimba ennyumba ya Mukama n'agimala. N'azimba ebisenge by'ennyumba munda n'emiti gy'emivule; ate wansi n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi. Munda wa Yeekaalu mu kitundu eky'emabega n'azimbayo ekisenge eky'embaawo ez'emivule okuva wansi okutuukira ddala waggulu, bw'atyo n'ayawula ku Yeekaalu ekifo kya mita mwenda obuwanvu n'obugazi, ekyo nga kye kifo Ekitukuvu Ennyo. Mu maaso g'Ekifo ekitukuvu ennyo, ekitundu kya Yeekaalu ekisigaddeyo, obuwanvu bwayo bwali mikono ana (40). Embaawo ze baabikka ku bisenge zaali zooleddwako ebifaananyi by'ekiryo, n'ebimuli ebyanjuluzza. Munda wonna ebisenge byali bibikkiddwako embaawo ez'emivule, ng'amayinja ge baazimbisa tegalabika. Munda mu Yeekaalu, n'azimbamu ekifo ekitukuvu ennyo, eky'okutekangaamu Ssanduuko y'Endagaano ya Mukama. Ekifo kino Ekitukuvu Ennyo kyali emikono abiri (20) obuwanvu, emikono abiri (20) obugazi, n'emikono abiri (20) obugulumivu, n'akibikkako zaabu omulongoose, ekyoto n'akibikkako embaawo ez'emivule. Yeekaalu yonna munda nagibikako zaabu omulongoose, n'atimba emikuufu egya zaabu awayingirirwa mu kifo ekitukuvu ennyo, nga nakyo kibikkiddwako zaabu. Yeekaalu yonna munda y'agibikkako zaabu okugibunya, wamu n'ekyoto ekyali mu kifo Ekitukuvu Ennyo. Mu kifo Ekitukuvu Ennyo n'ateekamu bakerubi babiri ababagiddwa mu miti egy'emizeyituuni nga buli omu, obuwanvu bwe emikono kkumi (10). N'ekiwawaatiro ekimu ekya kerubi kyali emikono etaano, n'ekiwawaatiro eky'okubiri ekya kerubi emikono etaano: ekiwawaatiro ekimu we kikoma, ne kinnaakyo we kikoma, ebbanga lyali emikono kkumi (10). Ne kerubi ow'okubiri yali emikono kkumi (10), bakerubi bombi baali benkana era nga bafaanagana. Kerubi omu obugulumivu bwe bwali emikono kkumi (10), n'obwa kerubi ow'okubiri bwe butyo. N'ateeka bakerubi mu kifo Ekitukuvu Ennyo: n'ebiwawaatiro bya bakerubi byali bibambiddwa bwe bityo ekiwawaatiro ky'omu n'okukwata ne kikwata ku kisenge eruuyi; n'ebiwawaatiro byabwe ne bikwataganira wakati w'ennyumba. Bakerubi n'ababikkako zaabu. Sulemaani n'ayola ku bisenge by'Ekifo Ekitukuvu Ennyo n'ebya Yeekaalu yonna ebifaananyi ebya bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza. Wansi mu Kifo ekitukuvu Ennyo ne mu Yeekaalu yonna n'abikkawo zaabu. Mu mulyango oguyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'awangamu oluggi olw'omuti emizeyituuni, ng'omwango gwalwo gwa nsonda ttaano, omusongovu ku ludda olwa waggulu. Ebiwayi by'oluggi olwo byombi n'abyolako ebifaananyi bya bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza, n'azibukkako zaabu, zo, ne bakerubi, n'enkindu. Era n'akolera omulyango gwa wankaaki wa Yeekaalu, omwango ogw'omuti omuzeyituuni gwa nsonda nnya, n'enzigi bbiri ez'omuti omuberosi nga buli lumu lwa biwayi bibiri, nga byombi biggulwa. N'ayolako bakerubi n'enkindu n'ebimuli ebyanjuluzza, byonna ne bibikkibwako zaabu, nga bakola n'obwegendereza. N'azimba oluggya olw'omunda n'embu ssatu ez'amayinja amabajje, n'olubu olw'emiti egy'emivule. Ne bassaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu. Mu mwezi ogw'omunaana, gwe mwezi Buli, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obufuzi bwa Sulemaani, ennyumba ya Mukama yonna ne ggwa okuzimbibwa, ng'entegeka yaalyo bwe yali. Sulemaani lyamutwalira emyaka musanvu okugizimba. Sulemaani y'amala emyaka kkumi n'esatu (13) ng'azimba olubiri lwe. Yazimba ennyumba eyitibwa Ekibira kya Lebanooni, nga obuwanvu bwayo bwali emikono kikumi (100), n'obugazi bwayo emikono ataano (50), n'obugulumivu bwayo emikono asatu (30) ku mbu ssatu ez'empagi ez'emivule, emiti egy'emivule nga giri ku mpagi. Waggulu w'ebisenge ebyazimbibwa ku mpagi ana mu ettaano (45), kkumi na ttaano (15) mu buli lubu, ne wabikkibwako embaawo ez'omuvule. Embu z'amadirisa zaali ssatu nga gatunuuliganye, era nga gali mu nnyiriri ssatu. Emiryango gyonna n'emyango gyazo gyali gya nsonda nnya ezenkanankana, n'amadirisa gaali mu nnyiriri ssatu, nga buli ddirisa ery'oludda olumu litunudde mu ddirisa ery'oludda olulala. N'azimba ekisenge ekinene ekiyitibwa ekyempagi: obuwanvu bwakyo bwali emikono ataano (50), n'obugazi bwakyo emikono asatu (30); nga kuliko ekisasi ekisereke ekiwaniriddwa empagi. N'azimba ekisenge ekinene Omwatekebwa entebe ey'obwakabaka, era nga kye kisaalirwamu emisango: kyabikibwako embaawo ez'emivule, okuva wansi okutuuka waggulu. Ennyumba Sulemaani mweyasulanga yali mmanju w'ennyumba esalirwamu emisango. Enzimba yaayo yali ye emu n'ey'Ennyumba y'Emisango. Sulemaani n'azimbira ne mukazi we, muwala wa kabaka w'e Misiri, ennyumba efaanana ng'eyo. Ennyumba ezo zonna, zazimbisibwa amayinja ag'omuwendo omungi, agaatemebwa mu kirombe ne gayoyotebwa bulungi, ku ngulu ne munda, agaazimbibwa okuva ku musingi okutuuka waggulu, era bwe gatyo n'ebweru okutuuka mu luggya olunene. N'omusingi gwazimbibwa n'amayinja ag'omuwendo, amanene; agamu nga ga mikono kkumi (10), n'amalala ga mikono munaana. Ne waggulu waaliwo amayinja ag'omuwendo omungi, amabajje, nga bwe gagerebwa, n'emiti egy'emivule. N'oluggya olunene olw'etoolodde lwalina embu ssatu ez'amayinja amabajje, n'olubu lw'emiti egy'emivule; ng'oluggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, n'ekisasi ky'ennyumba bwe byazimbibwa. Awo kabaka Sulemaani n'atumya Kiramu ow'e Ttuulo. Yali mwana wa mukazi nnamwandu ow'omu kika kya Nafutaali, ne kitaawe yali musajja ow'e Ttuulo, omuweesi w'ebikomo; era yajjuzibwa amagezi n'okutegeera n'obukabakaba, okukola emirimu gyonna egy'ebikomo. N'ajja eri kabaka Sulemaani, n'akola omulimu gwe gwonna. Kiramu yaweesa empagi bbiri ez'ebikomo, buli mpagi obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana (18), ng'obwekulungirivu bwa buli mpagi emikono kkumi n'ebiri (12). N'akola emitwe ebiri egy'ebikomo ebisaanuuse, okugiteeka ku ntikko z'empagi: omutwe ogumu obugulumivu bwagwo bwali emikono etaano, n'omutwe ogwokubiri obugulumivu bwagwo emikono etaano. Ku mutwe ogwali ku buli mpagi, n'akolerako emikuufu musanvu egirukiddwa mu ngeri y'akatimba, era n'akolako n'embu bbiri ez'ebifaananyi by'amakomamawanga. Emitwe ku ntikko z'empagi ez'omu kisasi gyali gifaanana ng'ebimuli by'amalanga, era obugulumivu bwagyo emikono ena, ng'emitwe egyo giteereddwa mu kitundu ekyekulungirivu ku mpagi zombi waggulu w'ekifaananyi eky'akatimba. Ku buli mutwe kwaliko ebifaananyi by'amakomamawanga bibiri (200) mu mbu bbiri. Kiramu n'asimba empagi ku kisasi kya Yeekaalu: n'asimba empagi eya ddyo, n'agituuma erinnya lyayo Yakini: n'asimba empagi eya kkono, n'agituuma erinnya lyayo Bowaazi. Ne ku ntikko z'empagi kwaliko omulimu ogw'ebimuli eby'amalanga: bwatyo Kiramu bweyamaliriza omulimu gw'empagi. Kiramu n'aweesa tanka ey'amazzi, enene, enneekulungirivu ey'ekikomo, ya mikono kkumi (10) okuva ku muggo okutuuka ku muggo, neekulungirivu, n'obugulumivu bwayo bwali emikono etaano: era omugwa ogw'emikono asatu (30) gwagyetooloola. Era wansi w'omuggo gwayo okwetooloola waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi eby'ebiryo okugyetooloola, ezawesebwa awamu ne tanka ezo, obugulumivu bwabyo emikono kkumi (10). Ettanka yatuula ku bifaananyi eby'ente kkumi na bibiri, essatu nga zitunuulira obukiikakkono, n'essatu nga zitunuulira obugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiikaddyo, n'essatu nga zitunuulira obuvanjuba: enkoggo zaazo zonna nga zitunudde munda. Omubiri gwa ttanka gwali oluta lumu. Omugo gwayo gwali gukoleddwa ng'o gw'ekibya era ng'ekimuli kyamalanga. Ettanka eyo nga egyamu ensuwa enkumi bbiri (2,000). N'akola ebigaali kkumi eby'ekikomo, ekigaali obuwanvu bwakyo emikono ena, n'obugazi bwakyo emikono ena, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu. Byali bikoleddwa mu mbaati ezenkanankana enjuyi zonna ennya, nga ziteekeddwa mu fuleemu. Ku mbaati ezo ezaali mu fuleemu, kwaliko ebifaananyi by'empologoma n'ente ne bakerubi. Ne ku fuleemu kwaliko waggulu ekitereezebwako ebintu, ne wansi w'ebifaananyi by'empologoma n'ente waaliwo emige gy'ebimuli egireebeeta. Buli kigaali kyalina nnamuziga nnya ez'ekikomo, n'ebyuma kwe zeetooloolera, nga bya kikomo. Ku nsonda zaakyo ennya, kwaliko ekitereezebwako ebbenseni. Ebyo ebitereezebwako ebbenseni byali byoleddwako ebifaananyi by'emige gy'ebimuli. Waggulu ku mutwe, gwe kigaali waaliwo Omugo omwekulungirivu omuteekebwa ebbenseni, okuva ku mutwe gwe kigaali okudda waggulu gwali omukono gumu: ate okudda wansi gwali omukono gumu n'ekitundu: kwaliko enjola okwetooloola omugo gwonna. Embaati zaakyo zaalina enjuyi nnya ezenkanankana, nga si neekulungirivu. Nnamuziga ennya zaali wansi w'embaati, ng'ebyuma kwe zeetooloolera biweeseddwa nga tebyawuddwa ku bikondo. Obugulumivu bwa nnamuziga mukono gumu n'ekitundu. Nnamuziga ezo zaali zikoleddwa nga nnamuziga z'ebigaali ebikozesebwa mu ntalo. Ebyuma kwe zeetooloolera, n'empanka zaazo, n'empagi zaazo, n'emisingi gyazo, byonna byali bya kikomo. Ku buli nsonda ennya, kwaliko ekikondo ekyasaanusirizibwa awamu n'ekigaali. Ku ntikko ye kigaali, kwaliko omuge omwekulungirivu, obugulumivu bwagwo kitundu kya mukono: Empagi zaakyo n'embaati zaakyo byali biweeseddwa nga tebyawuddwa ku kigaali kyennyini. Ku bipande by'empagi zaakyo ne ku mbaati zaakyo, yayolako ebifaananyi bya bakerubi, n'empologoma, n'enkindu we bisobola okuggya, n'emige gy'ebimuli okwetooloola wonna. Kiramu bw'atyo bwe yakola ebigaali ekkumi (10), byonna byali biweeseddwa mu kikomo ekisaanuusiddwa, nga bifaanana, era nga byenkana mu bipimo ne mu ndabika. Era n'akola ebbenseni kkumi (10) ez'ebikomo: nga buli bbenseni eggyaamu ensuwa ana (40), era nga obugazi bwayo emikono ena: ku bigaali bino ekkumi (10), ku buli kimu kwaliko ebbenseni emu. N'ateeka ebigaali ebitaano ku ludda lwa Yeekaalu olwa ddyo, n'ebitaano ku ludda lwayo olwa kkono. Ttanka ennene n'agiteeka ku nsonda ya Yeekaalu ey'okuludda olwa ddyo olw'ebuvanjuba. Kiramu n'akola ebbenseni, ebisena ne bbakuli. Bw'atyo Kiramu n'amalira ddala omulimu gwonna gwe yakolera kabaka Sulemaani mu Yeekaalu ya Mukama. N'akola empagi bbiri, nga buli ntikko ya mpagi ekoleddwa mu kifaananyi kya bbakuli; ku buli emu ku mpagi zino n'atonako ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko okwetooloola. N'akola ebifaananyi by'amakomamawanga ag'ekikomo bina (400), nga gali mu mbu bbiri okwetooloola buli emu ku mpagi ezo. N'akola ebigaali kkumi (10), n'abikolerako ne bbenseni kkumi (10). N'akola ttanka emu n'ebifaananyi by'ente kkumi n'abibiri (12) nga biwaniridde ttanka. N'akola entamu, ebisena n'ebbakuli: ebintu ebyo byonna Kiramu bye yakolera kabaka Sulemaani mu Yeekaalu ya Mukama byali bya kikomo ekizigule. Ebintu ebyo, kabaka yabiweeseza mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati w'ebibuga Sukkosi ne Zalesani. Ebintu ebyo byonna Sulemaani teyabipima buzito, kubanga byali bingi nnyo: obuzito bw'ekikomo tebwategeerekeka. Sulemaani n'akola mu zaabu ebintu byonna eby'okukozesebwa mu Yeekaalu: ekyoto n'emmeeza okuteekebwa emigaati egy'okulaga ya zaabu; ebikondo by'ettaala ebiteekebwa mu maaso g'Ekifo ekitukuvu Ennyo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku ludda olwa kkono, nga bya zaabu omulongoose; n'ebimuli, n'ettaala, ne makansi, n'akola ebikompe, ne makansi esaalako ebisiriiza, ebbakuli, n'ebisena, ebyoterezo by'obubbani nga bikoleddwa mu zaabu ennongoose, ne ppata z'enzigi ez'omu Kifo Ekitukuvu Ennyo, era n'ez'enzigi z'Essinzizo ez'ebweru, ebyo byonna byali bya zaabu. Bwe gutyo omulimu gwonna kabaka Sulemaani gwe yakola ku Yeekaalu ya Mukama ne guggwa. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga, effeeza n'ezaabu n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika ga Yeekaalu ya Mukama. Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'abakulembeze b'ebika byonna, n'abakulu b'ennyumba eza bajjajjaabwe eza Isiraeri, ne baggya eri kabaka Sulemaani e Yerusaalemi, okutwala essanduuko ya Mukama; nga bagiggya mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi. Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira awali kabaka Sulemaani ku mbaga, mu mwezi Esanimu, gwe mwezi ogw'omusanvu. Abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, bakabona ne basitula essanduuko ey'endagaano. Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu. Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali baali wamu naye mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente ezitabalika. Bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, ekifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi. Ebiwawaatiro bya bakerubi ebyanjuliziddwa, ne bibikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo. Emisituliro egyo gyali miwanvu, ng'omuntu ayimiridde munda mu Yeekaalu, mu maaso g'ekifo ekitukuvu ennyo, asobola okulaba emissa gyagyo, naye nga tegisobola kulabika ng'oli awalala wonna mu Yeekaalu: era gye giri ne leero. Temwali kintu kirala mu ssanduuko wabula ebipande byombi eby'amayinja Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri. Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, ekire ne kijjuza Yeekaalu ya Mukama, bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama nga kijjuzizza Yeekaalu. Awo Sulemaani n'agamba nti Mukama wagamba nti Onoobeeranga mu kizikiza ekikutte, naye mazima nze nkuzimbidde Yeekaalu ey'okubeerangamu emirembe gyonna. Awo kabaka n'akyukira ekibiina kyonna eky'Abaisiraeri abaali bayimiridde n'akisabira omukisa. N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isiraeri, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, n'okutuukiriza akituukirizza n'omukono gwe, ng'ayogera nti Okuva ku lunaku lwe nnaggyirako abantu bange Isiraeri mu Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimba Yeekaalu, erinnya lyange libeerenga omwo; naye nneeroboza Dawudi okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri. Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri Yeekaalu. Naye Mukama n'agamba Dawudi kitange nti Wakola bulungi okulowooza okuzimbira erinnya lyange Yeekaalu: naye sigwe ojja okugizimba; wabula mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, ye alizimbira erinnya lyange Yeekaalu. Era Mukama atuukiriza kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, nga ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri Yeekaalu. Era ntadde mu ekifo eky'essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri. Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali, n'ayanjuluza emikono gye eri eggulu: n'ayogera nti Ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, tewali katonda afaanana ggwe, mu ggulu waggulu newakubadde wansi mu nsi; akuuma endagaano n'okusaasira eri abaddu bo, abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna: eyakuuma ekyo kye wamusuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange: weewaawo, kyewayogera n'okukituukiriza okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe kiri leero. Kale nno, ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, kuuma ekyo kye wasuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange ng'oyogera nti Mu zadde lyo tewaabulengawo musajja ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kasita abaana bo baneegenderezanga ekkubo lyabwe, ne batambulira mu maaso gange, nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange. Kale nno, ai Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, nkwegayiridde, kye wagamba omuddu wo Dawudi kitange. Naye ddala Ayi Katonda oyinza okubeera ku nsi? Olaba ne mu ggulu erya waggulu togyaamu, kale onooggya otya mu Yeekaalu eno gye nzimbye! Naye ssaayo omwoyo gwo eri okusaba kw'omuddu wo, n'eri okwegayirira kwe, ayi Mukama Katonda wange, owulire okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabira mu maaso go leero; amaaso go togagya ku Yeekaalu eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako nti Erinnya lyange linaabeeranga omwo: owulirenga byenakusabanga nze omuddu wo ng'atunuulidde Yeekaalu eno. Era owulirenga bye nkusaba nze omuddu wo, era n'abantu bo Isiraeri, bye banaakusabanga nga batunuulidde ekifo kino: weewaawo, otuwulire ng'osinzira mu ggulu eyo gy'obeera, era bw'owulira, osonyiwe. Omuntu bw'anaasobyanga ku munne, ne bamuleeta okumulayiza, n'ajja n'alayirira mu maaso g'ekyoto mu Yeekaalu eno; kale owuliranga ng'oyima mu ggulu, n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango. Abantu bo Abaisiraeri bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okuba nga baakwonoonye; bwe banaakukyukiranga nate ne beenenya ne baatula erinnya lyo ne basaba ne bakwegayirira mu nnyumba eno: kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Isiraeri, n'obakomyawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe. Eggulu bwe linaggalwangawo, enkuba netetonya, kubanga abantu bo baakwonoonye; naye bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, nga omaze okubabonereza; kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Isiraeri, n'obayigiriza ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; n'otonyesa enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika. Bwe wanaagwanga enjala mu nsi, oba bwe wanaabangawo kawumpuli, oba okugengewala, oba obukuku, oba nzige, oba akawuka; oba abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu bibuga byabwe; kawumpuli oba endwadde endala yonna ne bw'ebinaabanga bitya; abantu bo Abaisiraeri ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira: kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu, n'osonyiwa n'osasula buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu bonna: balyoke bakussengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe. Munnaggwanga atabeera mu bantu bo Abaisiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala ng'awulidde obukulu bwo, kubanga baliwulira obukulu bwo n'obuyinza bwo n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'akusinza ng'atunuulidde Yeekaalu eno; owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo kyo ky'obeeramu, n'omukolera nga bwakusabye; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, baakuseemu ekitiibwa ng'abantu bo Isiraeri bwe bakola, era bamanye nti Yeekaalu eno gye nzimbye kye kifo eky'okukusinzizangamu. Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gyonobanga obatumye ne basaba Mukama nga batunuulira ekibuga kye weeroboza ne Yeekaalu eno gye nzimbye okusinzizangamu erinnya lyo: kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'obalwanirira. Abantu bo bwe banaakwonoonanga kubanga tewali muntu atayonoona, n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe baabwe, ne babatwala nga basibe mu nsi ey'abalabe oba wala oba kumpi; naye bwe banajjukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi y'abo abaabatwala nga basibe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo; bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza ne Yeekaalu gye nzimbye okusinzizangamu erinnya lyo; kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu n'obalwanirira; n'osonyiwa abantu bo abakwonoonye okusobya kwabwe kwonna kwe bakusobya; n'obawa okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, babakwatirwe ekisa: kubanga be bantu bo era bwe busika bwo bwe waggya mu Misiri, mu kubonaabona kuli okungi; amaaso go gazibukenga eri okwegayirira kw'omuddu wo n'eri okwegayirira kw'abantu bo Isiraeri okubawuliranga buli bwe banaakukaabiranga. Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi okuba obusika bwo, nga bwe wayogerera mu muddu wo Musa, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ayi Mukama Katonda. Sulemaani bwe yamala okusaba Mukama ebyo byonna n'okumwegayirira, n'asituka okuva mu maaso g'ekyoto kya Mukama, we yali afukamidde, ng'ayanjuluza engalo ze eri eggulu. N'ayimirira n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa n'eddoboozi ddene ng'ayogera nti Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isiraeri okuwummula, nga byonna bwe biri bye yasuubiza; tewali kigambo na kimu kibuze ku birungi byonna bye yasuubiza nga ayita mu muddu we Musa. Mukama Katonda waffe abeerenga naffe nga bwe yabanga ne bajjajjaffe; aleme okutuleka newakubadde okutwabulira: alyoke akyuse emitima gyaffe agize gy'ali tutambulirenga mu makubo ge gonna tukwatenga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye bye yalagira bajjajjaffe. N'ebigambo byange bino bye nneegayiridde mu maaso ga Mukama bibeerenga kumpi Mukama Katonda waffe emisana n'ekiro, akwatirwenga abantu be Abaisiraeri n'omuweereza we kabaka waabwe, ekisa, mu byetaago byabwe buli lunaku, amawanga gonna ag'oku nsi gamanye nga Mukama ye Katonda; so tewali mulala. Kale emitima gyammwe ginywererenga ddala ku Mukama Katonda waffe, mutambulirenga mu mateeka ge, mukwatenga ebiragiro bye nga bwe mukola kaakano. Awo kabaka Sulemaani n'Abaisiraeri bonna abali naye, ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama. Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000), n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri (120,000). Kabaka n'Abaisiraeri bonna bwe batyo bwe bawonga Yeekaalu ya Mukama. Ku lunaku olwo, kabaka n'atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso ga Yeekaalu, kubanga eyo gye yaweerayo ssaddaaka ezokebwa nga nnamba, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'amasavu agava mu ssaddaaka eziweebwayo olw'emirembe. Ssaddaaka ezo yaziweerayo eyo, kubanga ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama, kyali kitono nnyo nga ssaddaaka ezokebwa nga nnamba, n'ebiweebwayo eby'obutta n'amasavu g'ebiweebwayo olw'emirembe tebiyinza kuggyako. Mu kiseera ekyo, Sulemaani ng'ali wamu n'Abaisiraeri bonna, n'akola embaga mu maaso ga Mukama, Katonda waffe, gye baamalako ennaku musanvu, n'ennaku endala musanvu, ze nnaku kkumi na nnya (14). Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awayingirirwa e Kamasi mu bukiikakkono, ne ku kagga ak'e nsalo ne Misiri, mu bukiikaddyo. Ku lunaku olw'omunaana olwaddirira ennaku omusanvu ez'omulundi ogwokubiri, kabaka n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Abantu ne bamusabira omukisa, ne baddayo ewaabwe nga basanyufu, era nga bajaganya mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bye yali alaze Dawudi omuddu we, n'abantu be Abaisiraeri. Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okuzimba Yeekaalu ya Mukama n'ennyumba ya kabaka n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala bye yasiima okukola, Mukama n'alabikira Sulemaani omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. Awo Mukama n'agamba Sulemaani nti Mpulidde okusaba kwo n'okwegayirira kwo kw'osabidde mu maaso gange; ntukuzizza Yeekaalu eno gy'ozimbye okusinzinzagamu erinnya lyange emirembe gyonna; n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga ku yo enaku zonna. Naawe bw'onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga n'omutima ogw'amazima n'obugolokofu okukolanga nga byonna bwe biri bye nnaakulagira, era bw'onookwatanga amateeka gange n'emisango gyange; awo naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo ku Isiraeri emirembe gyonna; nga bwe nnasuubiza kitaawo Dawudi, bwe n'amugamba nti: Mu b'ezzadde lyo, toobulwengamu musajja atuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri. Naye bwe munaakyukanga obutangoberera nze, mmwe oba baana bammwe, ne mutakwata biragiro byange n'amateeka gange bye nnateeka mu maaso gammwe, naye ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza; kale ndimalawo Isiraeri mu nsi gye mbawadde; ne Yeekaalu eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigiggyawo mu maaso gange; kale Isiraeri alifuuka lufuumo era ekisekererwa mu mawanga gonna; era Yeekaalu eno newakubadde nga mpanvu bw'eti, naye buli anaagiyitangako aneewuunyanga n'asooza; era balyogera nti Mukama kiki ekimukozezza ensi eno bwe kityo ne Yeekaalu eno? Awo baliddamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda waabwe eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza; Mukama kyavudde abaleetako obubi buno bwonna. Awo olwatuuka emyaka abiri (20) bwe gyayitawo, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba zombi, ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, Kabaka Sulemaani n'awa Kabaka Kiramu ebibuga abiri (20), mu kitundu ky'e Ggaliraaya. Kiramu oyo kabaka w'e Ttuulo ye yayamba Sulemaani okufuna byonna bye yayagala okuzimbisa: emivule, n'emiberosi, ne zaabu. Awo Kiramu n'afuluma mu Ttuulo okulambula ebibuga Sulemaani by'amuwadde: n'atabisiima. N'ayogera nti Bibuga ki bino by'ompadde, muganda wange? N'abiyita ensi Kabuli ne leero. Kiramu yali aweerezza kabaka Sulemaani zaabu aweza talanta kikumi mu abiri (120). Gino gy'emirimu egy'obuwaze kabaka Sulemaani gye yakozesa abantu: okuzimba Yeekaalu n'ennyumba ye ne Miiro n'okuzimba ekigo kya Yerusaalemi, n'okuzimba ebibuga Kazoli ne Megiddo ne Gezeri. Falaawo kabaka w'e Misiri yali atabadde n'amenya Gezeri n'akyokya omuliro n'atta Abakanani abatuula mu kibuga n'akiwa muwala we nga ekirabo bwe yafumbirwa Sulemaani. Sulemaani n'akizimba buggya. Era n'azimba Besukolooni ekya wansi, ne Baalasi ne Tamali mu nsi ey'eddungu eya Yuda, n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu, n'ebibuga by'amagaali ge, n'ebibuga by'abasajja be abeebagala embalaasi, n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi ne mu Lebanooni, n'awalala mu matwale ge gonna. Abantu bonna abaasigalawo ku b'Amoli, ne ku Bakiiti, ne ku Baperizi, ne ku Bakiivi, ne ku Bayebusi, kwe kugamba abo abatali Baisiraeri, bazzukulu baabwe abaabaddira mu bigere mu nsi eyo, Abaisiraeri be bataayinza kusaanyizaawo ddala, abo Sulemaani be yakozesa emirimu egy'obuwaze, era be bagikola ne leero. Naye Sulemaani abaana ba Isiraeri bo teyabafuula baddu; naye baabanga basajja balwanyi n'abaweereza be n'abakulu be n'abaami, n'abakulu mu maggye ge, n'abaami b'amagaali ge n'abasajja be abeebagalanga embalaasi. Waliwo abaami bitaano mu ataano (550) abaalabiriranga abantu abaakolanga n'obuwaze emirimu gya Sulemaani. Naye muwala wa Falaawo n'ava mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka n'ajja mu nnyumba ye Sulemaani gye yali amuzimbidde: awo Sulemaani n'azimba ne Miiro. Emirundi esatu buli mwaka, Sulemaani n'awangayo, ku kyoto kye yazimbira Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Era n'anyookerezanga obubaane ku kyoto ekyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamaliriza Yeekaalu. Kabaka Sulemaani n'azimba empingu y'amaato mu Eziyonigeba ekiriraanye Erosi, ku lubalama lw'Ennyanja Emmyufu, mu nsi y'e Edomu. Kabaka Kiramu n'aweereza abamu ku balunnyanja be abamanyi ennyo ennyanja bakolere wamu n'abasajja ba Sulemaani. Ne bagenda e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta bina mu abiri (420), ne bamuleeta eri kabaka Sulemaani. Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani; Mukama lye yamuwa, n'ajja okumukema n'ebibuuzo ebizibu. Awo n'ajja e Yerusaalemi ng'alina abaddu bangi nnyo n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi; awo bwe yajja eri Sulemaani, n'amubuuza ebyo byonna ebyali mu mutima gwe. Sulemaani n'addamu byonna bye yamubuuza. Tewaali kintu na kimu kyakaluubirira Sulemaani kunnyonnyola. Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi gonna aga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba, n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe n'abasenero be n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu Yeekaalu ya Mukama ne yeewuunya nnyo n'awuniikirira n'atasigalamu mwoyo. N'agamba kabaka nti Ebigambo bye nnawulirira mu nsi yange, eby'ebikolwa byo n'amagezi go byali by'amazima. Naye ssaabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako na maaso gange. Ddala bye nawulira tebyenkana wadde ekimu eky'okubiri eky'ebyo bye ndabye. Amagezi go n'omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira. Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go. Mukama Katonda wo yeebazibwe eyakusiima n'akufuula kabaka wa Isiraeri: kubanga Mukama yayagala Isiraeri emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okukola eby'ensonga n'eby'obutuukirivu. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba n'awa kabaka Sulemaani zaabu talanta kikumi mu abiri (120), n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: tewaddayo nate kubaawo byakaloosa byenkana awo obungi ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani. Era n'empingu ya Kiramu eyaleeta zaabu okuva e Ofiri, n'ereeta embaawo ez'emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi. Kabaka n'akozesa embaawo ezo okuzimba obukomera ku madaala ag'omu Yeekaalu n'ag'omu nnyumba ye. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Tewaddayo nate kuleetebwa mbaawo za mitoogo ziri ng'ezo, wadde okulabibwako mu Isiraeri n'okutuusa leero. Awo ne kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa olw'ekisa kye ekya kabaka. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba n'addayo mu nsi ye n'abaddu be. Era ezaabu kabaka Sulemaani gyeyafunanga mu mwaka ogumu, nga yenkana obuzito bwa talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666), nga tobaliddeeko oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi, n'empooza ku bitundibwa, n'oyo eyavanga mu bakabaka bonna ab'e Buwalabu, ne mu bafuzi b'ebitundu mu Isiraeri. Kabaka Sulemaani n'aweesa engabo ennene bibiri (200) ezibikiddwako zaabu, nga buli ngabo ebikiddwako zaabu azitowa sekeri lukaaga (600). N'akola engabo entono eza zaabu bisatu (300) nga buli ngabo ebikiddwako zaabu obuzito laateri satu: n'azitereka mu nnyumba eyitibwa ekibira kya Lebanooni. Era kabaka n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ya masanga n'agibikkako zaabu nnungi nnyo nnyini. Entebe eyo yaliko amadaala mukaaga, era nga emabega awesigamwa nneekulungirivu waggulu; era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi n'awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono. Empologoma kkumi na bbiri (12) nga ziyimiridde eruuyi n'eruuyi ku buli ddaala ku madaala ago omukaaga, ku buli ddaala bbiri bbiri: tewaaliwo ntebe ya bwakabaka bwonna eyakolebwa nga efaanana nga eyo. Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba eyayitibwanga Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu ennongoose: tewaaliyo bya ffeeza; kubanga mu mirembe gya kabaka Sulemaani, feeza teyabalibwanga nga kintu eky'omuwendo. Kabaka yalina ku nnyanja, empingu y'amaato eyagendanga e Talusiisi n'empingu ya Kiramu. Empingu eyo, buli myaka esatu yavanga e Talusiisi ng'ereeta zaabu ne ffeeza n'amasanga, n'enkobe n'ennyonyi muzinge. Awo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi. Abantu bonna mu nsi yonna, ne bajjanga awali kabaka Sulemaani okwebuuza n'okuwulira amagezi ge, Katonda ge yamuwa. Buli muntu ku abo abajjanga eri kabaka Sulemaani buli mwaka nnaaleetanga ebirabo, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'eby'okulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu. Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagazi b'embalaasi. Yalina amagaali lukumi mu bina (1,400), n'abeebagazi b'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), be yateeka mu bibuga ebikuumirwamu amagaali, ne mu Yerusaalemi, ye yennyini kabaka mwe yali. Kabaka n'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu olw'obungi. Embalaasi Sulemaani ze yalina zaggibwa mu Misiri: abasuubuzi ba kabaka ne bazifunangayo mu bisibo, nga buli kisibo kirina omuwendo gwakyo. Abasuubuzi ba kabaka Sulemaani baagulanga amagaali n'embalaasi okuva e Misiri; eggaali Sekeri lukaaga (600), embalasi Sekeri kikumi mu ataano (150). Bakabaka bonna ab'Abakiiti n'ab'Abasuuli bazigulanga ku basuubuzi ba Sulemaani abo. Kabaka Sulemaani n'ayagala abakazi bangi bannamawanga omwali ne muwala wa Falaawo, era n'abakazi Abamowaabu n'Abamoni n'Abaedomu n'Abasidoni n'Abakiiti; Nga abaggya ku mawanga ago, Mukama ge yagamba Abaisiraeri nti Temuufubiriganwenga nabo, kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe kusinza bakatonda baabwe, naye Sulemaani n'abagaala ne yeegatta nabo. Era yalina abakyala lusanvu (700), n'abazaana bisatu (300), abakazi abo ne bakyusa omutima gwe. Sulemaani we yakaddiyira ng'abakazi be bakyusizza omutima gwe nga asinza bakatonda abalala: omutima tegwanywerera ku Mukama Katonda we nga ogwa Dawudi kitaawe bwe gwali. Sulemaani n'asinza Asutaloosi, katonda omukazi ow'Abasidoni, ne Mirukomu katonda w'Abamoni eyali eky'omuzizo mu Yuda. Era Sulemaani n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, n'atagobererera ddala Mukama, nga Dawudi kitaawe bwe yakola. Sulemaani n'azimba ku lusozi olw'olekedde Yerusaalemi ekifo ekigulumivu eky'okusinzizaamu Kemosi katonda w'Abamowaabu ne Moleki katonda w'Abamoni abali ab'omuzizo mu Yuda. Era bwe yazimbira bw'atyo bakazi be bannamawanga ebifo gye baayoterezanga obubaane ne bawaayo ssaddaaka eri bakatonda baabwe. Mukama n'asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwakyuka okuva ku Mukama Katonda wa Isiraeri eyali yaakamulabikira emirundi ebiri, era eyamulagira olw'ekigambo ekyo aleme okugoberera bakatonda abalala, naye n'atakwata ekyo Mukama kye yalagira. Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti Kubanga okoze kino so tokutte ndagaano yange n'amateeka gange bye nnakulagira, sirirema kukuyuzaako obwakabaka ne mbuwa omuddu wo. Naye sirikola bwe ntyo ku mirembe gyo ku lwa Dawudi kitaawo: naye ndibuyuza okubuggya mu mukono gw'omwana wo. Naye sirimuyuzaako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa omwana wo ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange era ku lwa Yerusaalemi kye nneeroboza. Awo Mukama n'ayimusiza Sulemaani omulabe, Kadadi Omwedomu: eyali omulangira mu zzadde lya kabaka wa Edomu. Emabegako, Dawudi bwe yali mu Edomu, Yowaabu omuduumizi w'eggye n'agenda okuziika abattibwa, era n'atta buli musajja mu Edomu. Yowaabu n'Abaisiraeri bonna be yali nabo, baamalayo emyezi mukaaga, era mu kiseera ekyo, mwe battira buli musajja na buli mwana ow'obulenzi mu Edomu, okuggyako Kadadi n'abamu ku baweereza Abaedomu aba kitaawe, abadduka ne bagenda mu Misiri. Kadadi yali akyali mwana muto. Ne bava mu Midiyaani ne bagenda e Palani, gye baggya abasajja abamu, ne bagenda nabo e Misiri. Ne batuuka eri kabaka waayo, ye n'awa Kadadi ekibanja n'ennyumba, era n'alagira bamuwenga eby'okulya. Kadadi n'aganja nnyo ewa Falaawo, era kabaka oyo n'awa Kadadi omukazi ow'okuwasa nga ye muganda wa mukazi we yennyini, Nnaabagereka Tapenesi. Muganda wa Tapenesi n'azaalira Kadadi omwana ow'obulenzi Genubasi. Tapenesi n'akolera mu lubiri omukolo ogw'okumuggya ku mabeere. Genubasi n'abeera mu lubiri lwa Falaawo wamu n'abaana ba Falaawo. Awo Kadadi bwe yawulirira mu Misiri nga Dawudi akisizza omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, era nga ne Yowaabu omuduumizi w'eggye afudde, n'agamba Falaawo nti Ka ŋŋende, nzireyo mu nsi y'ewaffe. Falaawo n'amubuuza nti Kiki ky'ojula ng'oli nange, ekikwagaza okuddayo mu nsi y'ewammwe? Kadadi n'addamu nti Tewali, naye era ndeka ŋŋende. Awo Katonda n'amuyimusizaako omulabe omulala, Lezoni mutabani wa Eriyadda eyali adduse mukama we Kadadezeri kabaka w'e Zoba: Dawudi bwe yatta ab'omu Zoba, Lezoni n'akuŋŋaanya abasajja, n'aba omukulu w'ekibinja kyabwe. Ne bagenda ne bamufuula kabaka mu Ddamasiko. Lezoni n'aba mulabe wa Isiraeri mu mulembe gwa Sulemaani gwonna. Okwo kw'ogatta eby'obulabe Kadadi bye yakolanga, Lezoni n'akyawa Isiraeri, ng'olwo y'afuga Obusuuli. Awo Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow'e Zereda, omuddu wa Sulemaani, nnyina ye Zeruwa eyali nnamwandu, naye n'ajeemera kabaka. Era eno ye yali ensonga kyeyava ajeemera kabaka; kabaka Sulemaani yazimba ebbibiro eriyitibwa Miiro, n'aziba omuwaatwa ogwali mu kisenge ky'ekibuga kya Dawudi kitaawe. Era omusajja oyo Yerobowaamu yali musajja wa maanyi omuzira: Sulemaani n'alaba omulenzi oyo nga munyiikivu, n'amutikkira emirimu gyonna egy'ennyumba ya Yusufu. Awo olwatuuka mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ava mu Yerusaalemi, nnabbi Akiya Omusiiro n'amusanga mu kkubo; era Akiya yali ayambadde omunagiro omuggya; awo bombi ne baba bokka ku ttale. Akiya n'akwata omunagiro omuggya n'aguyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. N'agamba Yerobowaamu nti Weetwalire ebitundu kkumi: kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndiyuza mu bwakabaka ne mbuggya mu mukono gwa Sulemaani ne nkuwa ggwe ebika kkumi: Naye Sulemaani alisigazza ekika kimu ku lw'omuddu wange Dawudi ne ku lwa Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri: kubanga banvudeko ne basinza Asutaloosi katonda omukazi ow'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni; so tebatambulidde mu makubo gange okukola ebiri mu maaso gange ebirungi n'okukwata amateeka gange n'emisango gyange nga Dawudi kitaawe bwe yakolanga. Kyokka siriggya ku Sulemaani bwakabaka bwe bwonna; naye ndimuleka n'afuga ennaku zonna ez'obulamu bwe ku lwa Dawudi omuddu wange gwe nnalonda kubanga yakwata ebiragiro byange n'amateeka gange: naye ndiggya ku mutabani wa Sulemaani obwakabaka; ggwe ne nkuwaako ebika kkumi. Ne mutabani we ndimuwa ekika kimu, Dawudi omuddu wange abeerenga n'omuntu ow'omuzadde lye ennaku zonna mu Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza okusinzizangamu erinnya lyange. Era ndikutwala, n'oba kabaka wa Isiraeri, n'ofuga nga bw'oyagala. Bw'onoowuliranga byonna bye nkulagira n'otambuliranga mu makubo gange n'okolanga ebyo ebiri mu maaso gange ebirungi, ndikuwa okufuga Isiraeri ne nyweza ennyumba yo ku bufuzi nga bwenakola ku Dawudi. Era olw'ekibi kya Sulemaani ndibonereza ezzadde lya Dawudi, naye siriribonerezza ennaku zonna. Sulemaani bwe yamanya ebyo, n'asala amagezi okutta Yerobowaamu, kyokka Yerobowaamu n'addukira e Misiri ewa Sisaki kabaka waayo, n'abeera eyo okutuusa nga Sulemaani amaze okufa. Era ebikolwa byonna ebirala ebya Sulemaani ne byonna bye yakola n'amagezi ge byawandiikibwa mu kitabo ky'ebikolwa bya Sulemaani. Ekiseera Sulemaani kye yafugira Isiraeri yonna mu Yerusaalemi kyali emyaka ana (40). Awo Sulemaani ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: awo Lekobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Abaisiraeri bonna gyebali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. Yerobowaamu mutabani wa Nebati n'akiwulira ng'akyali mu Misiri gye yali addukidde okuwona kabaka Sulemaani, era nga gy'abeera. Awo ne batumya Yerobowaamu najja; ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bagenda ne boogera ne Lekobowaamu nti Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito: naye ggwe bwonowewula ku kikoligo ekyo n'otugondeza ku bulamu, kale tunakuweerezanga. Lekobowaamu n'abagamba nti Mugende mumaleyo ennaku ssatu, mulyoke mukomewo. Abantu ne bagenda. Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Sulemaani kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya? Ne bamuddamu nti Bw'onokkiriza okuba omuweereza w'abantu bano olwaleero, n'okkiriza okubagondera, n'obaddamu ebigambo ebirungi, kale olwo banaabanga baddu bo ennaku zonna. Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, ne yeebuuza ku bavubuka beyakula nabo abaamuweerezanga. N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu abantu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako? Awo abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu abo abakugambye nti Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe kituwewulire, bagambe nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange. Oba nga kitange yababinika ekikoligo ekizito, nze nja ku kyongerako obuzito. Oba yabakangavvuzanga na nkoba, nze nja kubakangavvuzanga na njaba ez'obusagwa. Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bakomawo eri Lekobowaamu ku lunaku olwokusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mukomangawo gye ndi nate ku lunaku olwokusatu. Awo kabaka n'addamu abantu n'ebboggo, n'aleka amagezi abakadde ge baamuwa; n'akolera ku magezi abavubuka ge bamuwa, ng'ayogera nti Kitange yafuula ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa. Awo kabaka n'atawuliriza bantu; kubanga kyali kigambo Mukama kye yaleeta atuukirize ekigambo kye Mukama kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati nga akiyisa mu Nnabbi Akiya Omusiiro. Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nti Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? So tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde mu weema zammwe, ayi Isiraeri: ab'ennyumba ya Dawudi beefuge bokka. Awo Isiraeri ne baddayo ewaabwe. Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga. Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Adolamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze; Abaisiraeri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka n'ayanguwa okulinnya mu ggaali ye n'adduka n'addayo mu Yerusaalemi. Bwe batyo Abaisiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi n'okutuusa leero. Awo Isiraeri yenna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumya najja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yenna: ekika kya Yuda kyokka kye kyanywerera ku be nnyumba ya Dawudi. Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya mu kika kya Yuda n'ekya Benyamini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana (180,000), okulwanyisa Abaisiraeri okubakomyawo mu bwakabaka bwe. Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda n'ennyumba yonna eya Yuda ne Benyamini n'abantu bonna abalala nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe abaana ba Isiraeri: muddeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama ne baddayo ne bagenda ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. Awo Yerobowaamu n'azimba bbugwe ku Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abeera omwo; ne Penueri nakyo naakizimbako bbugwe. Yerobowaamu n'alowooza mu mutima nti Kaakano obwakabaka bwandiddamu okufugibwa ab'ennyumba ya Dawudi. Abantu bano bwe banaagendanga mu Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama mu Yeekaalu, omutima gwabwe guyinza okuwuguka ne bakyukira mukama waabwe Lekobowaamu kabaka wa Yuda, nze ne banzita ne badda gyali. Awo kabaka bwe yamala okulowooza bwatyo, n'akola ennyana bbiri eza zaabu: n'agamba abantu ba Isiraeri nti Tekikyabeetaagisa kugendanga Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka. Laba bano be bakatonda bammwe abaabaggya mu nsi y'e Misiri. Ennyana emu naagiteeka mu Beseri, endala naagiteeka mu Ddaani. N'ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kubanga abantu baagendanga ne basinza ennyana eyali e Ddaani n'abalala ne basinza eyali e Beseri. N'azimba ebifo ebirala eby'okusinzizangamu ku nsozi, era n'assaawo bakabona ng'abaggya mu bantu bonna abatali ba ku baana ba Leevi. Yerobowaamu era n'ateekawo embaga, ebeerengawo mu mwezi ogw'omunaana ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, nga bwe bakolanga mu Yuda. N'agenda e Beseri eri ekyoto n'awaayo ssaddaaka eri ennyana gye yakola: era n'asaawo bakabona b'ebifo ebigulumivu bye yakola e Beseri. N'agenda eri ekyoto kye yazimba e Beseri ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, gwe mwezi gwe yagunja mu mutima gwe ye; n'ateraawo Abaisiraeri embaga, n'alinnya eri ekyoto, n'anyokeza obubaane. Awo, ne wajja omusajja wa Katonda ng'ava mu Yuda olw'ekigambo kya Mukama n'ajja e Beseri: awo Yerobowaamu yali ng'ayimiridde awali ekyoto okunyookeza obubaane. Awo omusajja wa Katonda n'ayogerera waggulu ku kyoto olw'ekigambo kya Mukama n'ayogera nti Ggwe ekyoto, ekyoto, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, omwana erinnya lye Yosiya alizaalibwa mu nnyumba ya Dawudi; ku ggwe kw'alittira bakabona b'ebifo ebigulumivu eby'okunsozi, abakunyookerezaako obubaane. Era amagumba g'abafu galyokerwa ku ggwe. N'awa akabonero ku lunaku olwo ng'ayogera nti Kano ke kabonero Mukama k'ayogedde: laba, ekyoto kiryatika n'evvu erikiriko liriyiika. Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ekigambo eky'omusajja wa Katonda kye yayogerera waggulu ku kyoto mu Beseri, awo Yerobowaamu n'agolola omukono gwe ng'ayima awali ekyoto ng'ayogera nti Mumukwate. N'omukono gwe yagololera omusajja wa Katonda negukalambala, n'atayinza kuguzza nate. Ekyoto nakyo ne kyatika n'evvu ne liyiika okuva ku kyoto ng'akabonero bwe kaali omusajja wa Katonda ke yawa olw'ekigambo kya Mukama. Awo kabaka n'addamu n'agamba omusajja wa Katonda nti Weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo onsabire omukono gwange guwone. Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne guwona ne guddawo nga bwe gwali olubereberye. Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti Tugende ffenna eka, owummuleko, olye ku mmere era nkuwe ekirabo. Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti Newakubadde ng'onompa ekimu eky'okubiri ekyo buggagga bwo, sijja kuyingira mu nnyumba yo, sijja kulya mmere, so sijja kunywa mazzi mu kifo kino: kubanga Mukama yankuutidde ng'ayogera nti Tolya emmere, tonywa mazzi so toddirayo mu kkubo lye wajjiddemu. Awo n'addirayo mu kkubo eddala, n'aleka ly'eyajjiramu ng'ajja e Beseri. Awo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri, batabani ne b'ajja: ne bamubuulira byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze mu Beseri ku lunaku olwo, ne baamubulira n'ebigambo bye yagamba kabaka. Kitaabwe n'ababuuza nti Kkubo ki lyakutte nga addayo? Batabani be baali balabye ekkubo omusajja wa Katonda eyava mu Yuda lyeyakwata. N'agamba batabani be nti Munteekere amatandiiko ku ndogoyi. Awo ne bamuteekera amatandiiko ku ndogoyi: n'agyebagala. N'agoberera omusajja wa Katonda n'amusanga ng'atudde wansi w'omwera: n'amubuuza nti Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Yuda? N'amuddamu nti Ye nze. Awo n'amugamba nti Tuddeyo ffembi eka tulye ku mmere. N'ayogera nti Siyinza kuddayo naawe newakubadde okuyingira naawe mu nnyumba: so siiriire mmere so sinywere mazzi wamu naawe mu kifo kino: kubanga Mukama yandagira nga agamba nti Tolya ku mmere, tonywayo mazzi era tokomerawo mu kkubo ly'ogendeddemu. Awo Nnabbi omukadde ow'e Beseri n'amugamba nti Nange ndi nnabbi nga ggwe bw'oli; era malayika aŋŋambye n'ekigambo kya Mukama nti Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe amazzi. Naye ng'amulimba. Awo musajja wa Katonda n'addayo ne nnabbi omukadde ow'e Beseri, n'alya emmere, n'anywa n'amazzi mu nnyumba ye. Awo olwatuuka bwe bali nga balya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi omukadde eyamukomyawo. Muddoboozi ery'omwanguka, n'agamba omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti Mukama agamba nti Nga bw'ojeemedde kye nakugamba Nze Mukama, Katonda wo, n'otokola kye nnakulagira, naye n'okomawo, n'olya emmere era n'onywa amazzi mu kifo kye nnakugambako nti tolyayo mmere era tonywayo mazzi, omulambo gwo teguliziikibwa wamu ne bajjajjaabo. Awo nnabbi omukadde bwe yamala okulya emmere n'okunywa, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi, ng'agitegekera nnabbi gweyakomyawo. Awo bwe yali ng'agenda empologoma n'emusanga mu kkubo n'emutta: omulambo gwe ne gusigala mu kkubo, endogoyi n'empologoma neziyimirira kumpi nagwo. Kale, laba, abantu ne bayitawo ne balaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi n'omulambo: ne bagenda ne bakibuulira abantu ab'omu kibuga nnabbi omukadde mwe yabeeranga. Awo nnabbi omukadde eyamukomyawo, bwe yakiwulira, n'agamba nti ye musajja wa Katonda eyajeemedde ekiragiro kya Mukama: Mukama kyavudde amugabula eri empologoma emutaagudde n'emutta ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kyeyamugamba. Awo n'agamba batabani be nti Munteekere amatandiiko ku ndogoyi. Ne bagiteekako amatandiiko. N'agenda n'asanga omulambo gwe nga gusuuliddwa mu kkubo n'endogoyi n'empologoma nga ziyimiridde kumpi n'omulambo: empologoma nga teridde mulambo so nga tetaagudde ndogoyi. Nnabbi omukadde n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'aguteeka ku ndogoyi n'aguzzaayo mu kibuga Beseri: okugukungubagira n'okuguziika. Nnabbi omukadde n'ateeka mu ntaana ye omulambo gw'omusajja wa Katonda; ne bamukungubagira nga boogera nti Woowe, muganda wange! Awo olwatuuka ng'amaze okumuziika n'agamba batabani be nti Bwe ndifa, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mw'aziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi n'amagumba ge. Kubanga ekigambo omusajja wa Katonda kyeyayogerera waggulu ku kyoto e Beseri, ne ku nnyumba zonna ez'ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby'e Samaliya tekirirema kutuukirira. Oluvannyuma lw'ekigambo ekyo Yerobowaamu n'atakyuka okuleka ekkubo lye ebbi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu ng'abaggya ku bantu bonna: buli eyayagalanga, n'amwawulanga nnamussaawo okuba kabona mu kifo ekigulumivu. Ekibi kya Yerobowaamu ekyo ne kireetera eb'ennyumba ye okuzikirira n'okuggweerawo ddala. Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n'alwala. Yerobowaamu n'agamba mukazi we nti Golokoka, nkwegayiridde weefuule oleme okumanyibwa nga ggwe mukazi wa Yerobowaamu: ogende e Siiro; laba, Akiya nnabbi ali eyo eyanjogerako nga ndiba kabaka w'abantu bano. Era twala wamu naawe emigaati kkumi (10), n'emirala egy'empewere n'ensumbi ey'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali: ye alikubuulira omwana bw'aliba. Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'agolokoka n'agenda e Siiro n'ajja mu nnyumba ya Akiya. Era Akiya teyayinza kulaba; kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde bwe. Awo Mukama n'agamba Akiya nti Laba, muka Yerobowaamu ajja okukubuuza ebya mutabani we; kubanga alwadde: bw'oti bw'onoomugamba: kubanga olunaatuuka bw'anaayingira, aneefuula okuba omukazi omulala. Awo olwatuuka Akiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bye ng'ayingira mu luggi, n'ayogera nti Yingira, ggwe muka Yerobowaamu; lwaki okwefuula okuba omulala? Kubanga ntumiddwa gy'oli n'ebigambo ebizito. Genda obuulire Yerobowaamu nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga nnakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri, ne njuza mu bwakabaka nga mbuggya ku nnyumba ya Dawudi ne mbukuwa ggwe: era naye tobadde ng'omuddu wange Dawudi eyakwatanga ebiragiro byange era eyangoberera n'omutima gwe gwonna okukola ekyo kyokka ekyali mu maaso gange ekirungi; naye okoze ekibi okusinga bonna abaakusooka n'ogenda ne weekolera bakatonda abalala n'ebifaananyi ebisaanuuse okunsunguwaza, n'onsuula ennyuma w'amabega go: kale, laba, kyendiva ndeeta ekibi ku nnyumba ya Yerobowaamu era ndimalawo buli mwana ow'obulenzi eri Yerobowaamu, asibiddwa era n'atasibiddwa mu Isiraeri, era ndyerera ddala ennyumba ya Yerobowaamu ng'omuntu bw'ayera obusa n'okuggwaawo ne buggwaawo bwonna. Owa Yerobowaamu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga: kubanga Mukama akyogedde. Kale golokoka ogende mu nnyumba yo: ebigere byo bwe binaayingira mu kibuga, omwana anaafa. Kale Isiraeri yenna balimukungubagira ne bamuziika; kubanga ku ba Yerobowaamu oyo yekka ye alituuka mu ntaana: kubanga mu ye mulabise ekigambo ekirungi eri Mukama Katonda wa Isiraeri mu nnyumba ya Yerobowaamu. Era nate Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isiraeri alimalawo ennyumba ya Yerobowaamu ku lunaku olwo: naye njogedde ntya? Kaakano kati. Kubanga Mukama alikuba Isiraeri ng'ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi; era alisimbula Isiraeri okubaggya mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, era alibasaasaanyiza emitala w'Omugga; kubanga bakoze Baaseri baabwe, nga basunguwaza Mukama. Era aliwaayo Isiraeri olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yayonoona era bye yayonoonyesa Isiraeri. Awo muka Yerobowaamu n'agolokoka n'agenda n'ajja e Tiruza: awo bwe yali ng'ajja ku mulyango gw'ennyumba, omwana n'afa. Isiraeri yenna ne bamuziika ne bamukungubagira; ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gw'omuddu we Akiya nnabbi. N'ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu bwe yalwana era bwe yafuga, laba, byawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omumirembe gya Bassekabaka ba Isiraeri. N'ennaku Yerobowaamu ze yafugira zaali emyaka abiri mu ebiri (22), ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Nadabu mutabani we n'afuga mu kifo kye. Awo Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n'afuga mu Yuda. Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka ana mu gumu (41) bwe yalya obwakabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu (17) mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n'erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni. Yuda n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; ne bamukwasa obuggya olw'ebibi byabwe bye baakola okusinga byonna bajjajjaabwe bye baakola. Kubanga beezimbira nabo ebifo ebigulumivu nabo n'empagi ne Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi; era waaliwo n'abaalyanga ebisiyaga mu nsi: ne bakola ng'eby'emizizo byonna bwe byali eby'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka w'e Misiri n'ayambuka okulumba Yerusaalemi: n'aggyayo eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka; yatwalira ddala byonna: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. Awo kabaka Lekobowaamu n'akola engabo za bikomo okudda mu kifo kyazo, n'aziteresa mu mikono gy'abakulu b'ambabowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka. Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bazambalanga ne bazizza mu nju ey'abambowa. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Lekobowaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu Kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Era waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna. Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: ne nnyina erinnya lye lyali Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atandika okufuga Yuda. Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu. Abiyaamu nnakola ebibi byonna nga kitaawe bye yakola. Omutima gwe ne gutanywerera ku Mukama Katonda we ng'omutima gwa jjajjaawe Dawudi nga bwe gwali. Wabula ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n'amuwa omwana ow'obulenzi okumusikira ku ntebe ey'obwakabaka mu Yerusaalemi, n'okukuuma Yerusaalemi nga kiri mirembe. kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe okujjako mu kigambo kya Uliya Omukiiti. Mu mulembe gwa Abiyaamu gwonna, waabangawo entalo ezaatandikawo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omumirembe gya bassekabaka ba Yuda. Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu. Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye. Awo mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Asa n'atandika okufuga Yuda. Asa n'afugira emyaka ana mu gumu (41) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu. Asa n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe bwe yakola. N'agoba abaalyanga ebisiyaga mu nsi, n'aggyawo ebifaananyi byonna bajjajjaabe bye baakola. Era ne Maaka nnyina n'amugoba ku bwa nnamasole: n'atemaatema ekifaananyi kya Asera kye yakola n'akyokera ku kagga Kidulooni. Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna. N'ateeka mu nnyumba ya Mukama ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu ye yennyini bye yawonga, effeeza n'ezaabu, n'ebintu ebirala. Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna ze bafugiramu. Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'awamba ekibuga Laama naakizimbako ekigo waleme kubeerawo muntu asobola kuva mu Yuda wadde okugendayo okutuuka ku Asa, kabaka waayo. Awo kabaka Asa n'ajjayo zaabu n'effeeza n'eby'obugagga ebyali bisigadde mu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa abaddu be babitwalire Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti Tukole endagaano ey'okukolaganira awamu, nga bakitaffe gye baakola. Laba nkuweerezza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano yo ey'enkolagana ne Baasa, kabaka wa Isiraeri alyoke aggye amagye ge mu nsi yange. Awo Benikadadi n'akkiriza ebigambo bya kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'awamba ebibuga Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali. Baasa n'alekerawo okuzimba ekigo ku kibuga Laama n'agenda n'abeeranga e Tiruza. Awo kabaka Asa n'akuŋŋaanya aba Yuda bonna awatali kulekayo n'omu, ne baggyawo amayinja n'emiti kabaka Baasa by'eyazimbisa ekibuga Laama, Asa n'abizimbisa ebibuga Geba ekya Benyamini ne Mizupa. Ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Mu kiseera eky'obukadde bwe n'alwala ebigere. Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye. Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atandika okufuga Isiraeri mu mwaka ogwokubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kyonoono kye kye yayonoonyesa Isiraeri. Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'akolera Nadabu olukwe n'amuttira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti Nadabu n'aba Isiraeri kye baali bazingizizza. Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mwe yattira Nadabu, ye n'afuga mu kifo kye. Awo Baasa olw'amala okufuuka kabaka, n'atta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna, n'abazikiririza ddala obutalekaawo n'omu nga mulamu, nga Mukama bwe yayogera ng'ayita mu muddu we Akiya Omusiiro. Olw'ebibi Yerobowaamu bye yakola ne bireetera Isiraeri okwonoona, era ne bisunguwaza Mukama, Katonda wa Isiraeri. Ebikolwa ebirala byonna ebya Nadabu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zonna ze baafugiramu. Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka abiri mu ena (24). N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kweyayonoonyesa Isiraeri. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera nti Nnakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n'oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe; laba, ndiggirawo ddala Baasa n'ennyumba ye: era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati. Ow'omu nnyumba ya Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga. Ebikolwa ebirala byonna ebya Baasa ne bye yakola n'amaanyi ge byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa e Tiruza: Era mutabani we n'afuga mu kifo kye. Ekigambo kya Mukama nate ne kijjira nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Yeeku ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'olw'emirimu gy'emikono gye ng'afaanana n'ennyumba ya Yerobowaamu gye yazikiriza. Mu mwaka ogw'abiri mu mukaaga (26) ogwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n'atandika okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri. Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amusalira olukwe: era yali Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali ssaabakaaki mu Tiruza: Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) ogwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n'afuga mu kifo kye. Awo olwatuuka Zimuli bwe yatandika okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, n'atta ab'omu nnyumba ya Baasa bonna, n'atamulekerawo mwana yenna wa bulenzi ava munda ye oba owa mikwano gye. Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa nga ayita mu nnabbi Yeeku, olw'ebibi byonna ebya Baasa, n'ebibi bya Era mutabani we bye bayonoona era bye bayonoonyesa Isiraeri, ne basunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri. Ebikolwa ebirala byonna ebya Era ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afuga Isiraeri e Tiruza okumala ennaku musanvu zokka. Aba Isiraeri baali basiisidde okulwanyisa ekibuga Gibbesoni eky'Abafirisuuti. Awo abantu abaali basiisidde ne bawulira nti Zimuli asaze olukwe era asse kabaka ku lunaku olwo lwennyini nga bali mu lusiisira kye baava bafuula Omuli omukulu w'eggye okuba kabaka wa Isiraeri. Omuli n'ava e Gibbesoni n'eggye lyonna erya Isiraeri ne bazingiza Tiruza. Awo olwatuuka Zimuli bwe yalaba ng'ekibuga kimenyeddwa, n'ayingira mu kifo eky'ennyumba ya kabaka, n'alukumako omuliro ne yeeyokeramu, n'afa, olw'ebibi bye bye yayonoona ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi kye kye yakola okwonoonyesa Isiraeri. Ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Awo abantu ba Isiraeri ne beetemamu ebibiina bibiri: ekibiina ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okubeera kabaka; n'ekibiina ekirala nga kiwagira Omuli. Abo abaawagira Omuli ne basinga obungi abo abaawagira Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka. Mu mwaka ogw'asatu mu gumu (31) ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atandika okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri (12), yafugira emyaka mukaaga e Tiruza. Awo Omuli kabaka n'agula olusozi Samaliya okuva ku Semeri ne talanta bbiri eza ffeeza; n'aluzimbako ekibuga. Ekibuga ekyo kye yazimbako n'akituuma Samaliya, ng'akibbulamu erinnya lya Semeri eyali nnannyini lusozi olwo. Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'ayonoona okusinga bonna abaamusooka. Yakolera ddala nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri, olw'ebibi ebibye bye yakola, era naaleetera Abaisiraeri okwonoona nga basinza ebifaananyi. Ebikolwa ebirala byonna ebya Omuli bye yakola n'amaanyi ge ge yalaga byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Awo Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya: Akabu mutabani we n'afuga mu kifo kye. Awo mu mwaka ogw'asatu mu munaana (38) ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atandika okufuga Isiraeri; Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka abiri mu ebiri (22). Akabu mutabani wa Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi okusinga bonna abaamusooka. Akabu eky'okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati teyakitya, naye n'agattako n'okuwasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, okwo n'ayongerako okusinza n'okuweereza Baali. N'azimbira Baali essabo mu Samaliya, n'amuzimbiramu ekyoto. Era Akabu n'akola ekifaananyi kya Aseeri katonda omukazi; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaamusooka. Mu mulembe gwe, Kyeri ow'e Beseri n'azimba buggya ekibuga Yeriko. Bwe yali ateekawo omusingi, n'afiirwa Abiraamu mutabani we omuggulanda, ate bwe yali awangamu enzigi zaakyo, n'afiirwa Segubi mutabani we omuggalanda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Yoswa mutabani wa Nuuni. Awo Eriya Omutisubi, eyaatulanga e Gireyaadi, n'agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bw'ali omulamu gw'empeereza, tewajja kuba musulo wadde enkuba, okumala emyaka okutuusa lwendiragira. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti, Va wano ogende ebuvanjuba wa Yoludaani awali akagga Kerisi weekweke. Onoonywanga mu kagga ako; era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisizanga eyo. Awo Eriya n'agenda n'akola ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali: n'agenda n'abeera awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani. Awo bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n'ennyama enkya, n'emmere n'ennyama akawungeezi; n'anywanga mu kagga. Ddaaki akagga ne kakalira olw'obutabaawo nkuba mu nsi. Nate ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti Situka ogende e Zalefaasi eky'omu Sidoni, obeere eyo: laba, ndagidde omukazi nnamwandu ali eyo okukuliisanga. Awo Eriya n'asituka n'agenda e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku mulyango omunene ogw'ekibuga, n'asangawo omukazi nnamwandu ng'alonderera obuku. Eriya n'amuyita, n'agamba nti Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi mu bbakuli nnyweko. Awo bwe yali ng'agenda okugaleeta, n'amuyita nate, n'amugamba nti Ndeeterayo n'akagaati ndyeeko. N'ayogera nti Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obutta mu ppipa n'otufuta mu kasumbi: era, laba nnonderera obuku buno nnyingire nneefumbire nze n'omwana wange, tubulye tufe. Awo Eriya n'amugamba nti Totya; genda okole nga bw'oyogedde: naye sooka obunfumbiremu akagaati, okaleete gye ndi, oluvannyuma weefumbire wekka n'omwana wo. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi. Awo n'agenda n'akola nga Eriya bw'ayogedde: omukazi n'ab'omu nnyumba ye ne Eriya ne baliira ennaku nnyingi. Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo omwana w'omukazi oyo nnyini nnyumba n'alwala; obulwadde ne bunyinyitira n'aggwamu n'akassa. Awo omukazi n'agamba Eriya nti Nakukola kabi ki ggwe omusajja wa Katonda? Wajja wano kunnumiriza bibi byange, na kutta mwana wange! Eriya n'amugamba nti Mpa omwana wo. N'amuggya mu kifuba kye n'amusitula n'amulinnyisa mu nju gye yabeerangamu n'amuteeka ku kitanda kye ye. N'eyegayirira Mukama, n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng'otta omwana we? Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu, n'eyegayirira Mukama n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw'omwana ono bumuddemu nate. Mukama n'awulira okusaba kwa Eriya; obulamu bw'omwana ne buddamu nate, n'alamuka. Awo Eriya n'akwata omwana n'amuggya mu kisenge ekya waggulu mu kalinaabiri, n'amuserengesa, n'amuwa nnyina, n'amugamba nti Omwana wo wuuno mulamu. Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano ntegeeredde ddala ng'oli musajja wa Katonda, era nga kya mazima Mukama ayogera ng'ayita mu ggwe. Awo bwe wayitawo ennaku nnyingi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogwokusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi. Awo Eriya n'agenda okweraga eri Akabu. Era enjala yali ennyinyikidde nnyo mu Samaliya. Akabu n'ayita Obadiya eyali omukulu w'olubiri. Omusajja ng'atya nnyo Mukama: kubanga olwatuuka Yezeberi bwe yamalawo bannabbi ba Mukama, Obadiya n'addira bannabbi kikumi (100) n'abakweka mu mpuku ataano ataano, n'abaliisanga n'emigaati n'amazzi. Awo Akabu n'agamba Obadiya nti Genda otuuke ku nzizi zonna n'obugga bwonna: oboolyawo tulizuula omuddo ne tuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa tuleme okufiirwa ensolo zonna. Awo ne bagabana ensi bombi okugibuna: Akabu n'akwata ekkubo erirye, ne Obadiya n'akwata erirye. Awo Obadiya bwe yali mu kkubo ng'atambula, Eriya n'amusisinkana. Obadiya n'amutegeera, n'avuunama n'abuuza nti Ggwe wuuyo, mukama wange Eriya? N'addamu nti Nze nzuuno: genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano. Obadiya n'amugamba nti Nsobezza ki kyova oyagala okuwaayo omuddu wo mu mukono gwa Akabu okunzita? Mu mazima ga Mukama Katonda wo, tewali ggwanga wadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya. Era bwe baagambanga nti Tali wano, n'alayiza ab'obwakabaka obwo oba ab'eggwanga eryo bakakase nga tebaakulabye. Kale kaakano oŋŋambye nti ŋŋende mbuulire mukama wange nti Eriya ali wano. Naye nnaba nnaakava w'oli, Mwoyo wa Mukama n'akutwala gye simanyi! Olwo bwe n'atuuka ne ntegeeza Akabu n'atayinza ku kulaba, ajja kunzita, sso nga nze omuweereza wo, nzisaamu Mukama ekitiibwa okuviira ddala mu buto bwange. Mukama wange, teebakubuulira kyennakola, Yezeberi bwe yali nga atta bannabbi ba Mukama, bwe nnakweka abasajja kikumi (100) ku bannabbi abo, ataano ataano mu mpuku, ne mbaliisizzanga eyo emigaati n'amazzi? Kaakano oŋŋamba nti Genda otegeeze mukama wo nti Eriya ali wano: kale ajja kunzitta! Awo Eriya n'ayogera nti Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, gw'empeereza, siireme kweraga gyali leero. Awo Obadiya n'agenda okusisinkana Akabu n'amubuulira: Akabu n'agenda okusisinkana Eriya. Awo olwatuuka Akabu bwe yalaba Eriya, Akabu n'amubuuza nti Ggwe wuuyo, ggwe ateganya Isiraeri? Eriya n'amuddamu nti Sinze nteganya Isiraeri; naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, gwe n'osinza Baali. Kale kaakano tumira Abaisiraeri bonna, bakuŋŋaanire we ndi ku lusozi Kalumeeri, n'abalaguzi Babaali ebina mu ataano (450), n'aba Asera ebina (400), abaliira ku mmeeza ya Yezeberi. Awo Akabu n'atumira abaana ba Isiraeri bonna n'akuŋŋaanyiza bannabbi ab'oku lusozi Kalumeeri. Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n'ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo. Awo Eriya n'agamba abantu nti Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi Babaali bali abasajja bina mu ataano (450). Kale batuwe ente bbiri; baalondeko ente emu okuba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, so tebateeka muliro wansi: nange naalongoosa ente eyokubiri, ne ngiteeka ku nku, ne siteeka muliro wansi. Kale bannabbi Babaali mwegayirire katonda wammwe, nange nja kwegayirira erinnya lya Mukama: kale Katonda anaddamu n'omuliro oyo abe Katonda. Awo abantu ne baddamu ne boogera nti Oyogedde bulungi. Awo Eriya n'agamba bannabbi Babaali nti Mulondeeko ente eyammwe, musooke okugirongoosa; kubanga muli bangi; mwegayirire katonda wammwe, naye temuteeka muliro wansi. Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne beegayirira Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ayi Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuukirabukira awali ekyoto kye baakola. Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira ng'abagamba nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afumiitiriza oba agenze kwetewuluzaako, oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase nga kyetaagisa okumuzuukusa. Ne boogerera waggulu ne beesala n'obwambe n'amafumu ng'engeri yaabwe bwe yali okutuusa omusaayi lwe gwakulukutira ku bo. Awo olwatuuka ettuntu bwe lyali limenyese, ne balekanira waggulu nga abalalu okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi; naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu newakubadde assaayo omwoyo. Awo Eriya n'agamba abantu bonna nti Munsemberere; abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kimenyesemenyese. Awo Eriya n'addira amayinja kkumi n'abiri (12) ng'omuwendo bwe guli ogw'ebika by'abaana ba Yakobo eyajjirwa ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo. N'azimba amayinja okuba ekyoto mu linnya lya Mukama, n'asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, obunene bwalwo olugyamu ebigero bibiri eby'ensigo. N'atindikira enku, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku. N'abagamba nti mujjuze amapipa ana (4) amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku. Awo n'abagamba nti Mukole bwe mutyo omulundi ogwokubiri; ne bakola bwe batyo omulundi ogwokubiri. N'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogwokusatu; ne bakola bwe batyo omulundi ogwokusatu. Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto; negajjuza n'olusalosalo. Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo. Mpulira, ayi Mukama, mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okugizza gyoli. Awo omuliro gwa Mukama ne gugwa ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'enku n'amayinja n'enfuufu, ne gukombera ddala amazzi agaali mu lusalosalo. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne bavuunama: ne boogera nti Mukama ye Katonda; Mukama ye Katonda. Awo Eriya n'abagamba nti Mukwate bannabbi Babaali: waleme okuwona n'omu. Ne babakwata: Eriya n'abaserengesa eri akagga Kisoni n'abattira eyo. Awo Eriya n'agamba Akabu nti Situka olye onywe; kubanga waliwo okuwuuma kw'enkuba nnyingi. Akabu n'agenda okulya n'okunywa. Eriya n'ayambuka ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri, n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge. N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Ddayo nate emirundi musanvu. Awo olwatuuka omulundi ogw'omusanvu n'ayogera nti Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono. N'ayogera nti Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza. Awo olwatuuka ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabinda, embuyaga ne kkunta, enkuba nnyingi n'ettonya. Akabu n'alinnya mu ggaali n'agenda e Yezuleeri. Mukama n'awa Eriya amaanyi ag'enjawulo, ne yeesiba ekimyu n'adduka ng'akulembeddemu Akabu okutuuka awayingirirwa e Yezuleeri. Awo Akabu n'abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola era bwe yatta bannabbi Babaali bonna n'ekitala. Awo Yezeberi n'atumira Eriya omubaka ng'ayogera nti Bakatonda bambonereze n'obukambwe, singa enkya mu kiseera nga kino nnaaba sinakutta nga gwe bwosse abantu abo. Awo Eriya bwe yawulira ekyo n'asituka n'adduka olw'obulamu bwe, n'agenda e Beeruseba ekya Yuda, n'alekayo omuddu we. Ye yennyini n'atambula mu ddungu olugendo lwa lunaku lumu, n'agenda n'atuula wansi w'omwoloola: ne yeesabira okufa; n'ayogera nti Kinaamala; kaakano, ayi Mukama, nziyaako obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi. N'agalamira ne yeebaka wansi w'omwoloola; awo malayika n'amukomako, n'amugamba nti Golokoka olye. N'atunula, kale, laba, omugaati ogwokeddwa ku manda nga guli emitwetwe n'akasumbi ak'amazzi. N'alya n'anywa n'agalamira nate. Malayika wa Mukama n'ajja nate omulundi ogwokubiri n'amukomako n'ayogera nti Golokoka olye; sikulwa ng'olugendo lukulemerera, kubanga lukyali luwanvu. N'agolokoka n'alya n'anywa, n'atambula mu maanyi ag'emmere eyo ennaku ana (40) emisana n'ekiro okutuusa lweyatuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda. Bwe yatuukayo n'ayingira mu mpuku n'asula omwo; awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira, n'amubuuza nti Okola ki wano, Eriya? N'amuddamu nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo. Mukama n'amugamba nti Fuluma oyimirire ku lusozi mu maaso gange. Kale, laba, Mukama n'ayitawo, embuyaga nnyingi ez'amaanyi ne zimenya ensozi ne zaasa enjazi mu maaso ga Mukama; naye Mukama nga tali mu mbuyaga: awo oluvannyuma lw'embuyaga kikankano kya nsi; naye Mukama nga tali mu kikankano ky'ensi: awo oluvannyuma lw'ekikankano muliro; naye Mukama nga tali mu muliro: awo oluvannyuma lw'omuliro ddoboozi ttono lya ggonjebwa. Awo Eriya bwe yawulira akaloboozi ako, ne yeebikka ku maaso omunagiro gwe, n'afuluma empuku, n'ayimirira ku mulyango gwayo. Olwo n'awulira eddoboozi nga limubuuza nti Okola ki wano, Eriya? N'addamu nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala; nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo. Awo Mukama n'amugamba nti Ddayo mu kkubo ery'eddungu erigenda e Ddamasiko: bw'otuukangayo ofukanga amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w'e Busuuli: Yeeku mutabani wa Nimusi omufukangako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: ne Erisa mutabani wa Safati ow'e Aberumekola omufukangako amafuta okuba nnabbi mu kifo kyo. Awo olulituuka oyo anaawonanga ekitala kya Kazayeeri Yeeku anaamuttanga: n'oyo anaawonanga ekitala kya Yeeku Erisa anaamuttanga. Naye ndyesigalizaawo abantu kasanvu (7,000) mu Isiraeri, bonna abatafukaamiriranga Baali, era abatamunywegerangako. Awo Eriya n'avaayo n'asanga Erisa mutabani wa Safati eyali ng'alima ng'alina mu maaso ge emigogo gy'ente kkumi n'ebiri (12), ye nga alimisa ogw'ekkumi n'ebiri (12), awo Eriya n'agenda waali n'amusuulako omunagiro gwe. Erisa n'alekawo ente, n'adduka mbiro n'agoberera Eriya, n'amugamba nti Nkwegayiridde, ka mmale okugenda nsiibule kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere. N'amugamba nti Kale genda sinnakugaana. Erisa n'asooka alekayo okugoberera Eriya, n'addira omugogo gw'ente n'azitta, n'afumba ennyama yaazo nga akozesa ebikoliggo byazo nga enku, n'agabira abantu ne balya. Awo n'asituka n'agenda n'agoberera Eriya n'amuweerezanga. Awo Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna: ne bakabaka asatu mu babiri (32) ne bamwegattako n'embalaasi n'amagaali: n'agenda n'azingiza Samaliya n'alwana nakyo. N'atumira Akabu kabaka wa Isiraeri ababaka mu kibuga, ne bamugamba nti Benikadadi akugambye nti Effeeza yo n'ezaabu yo yange; ne bakazi bo nabo n'abaana bo, abasinga obulungi, bange. Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mukama wange, ayi kabaka; kyogambye kye kiikyo; nze ndi wuwo ne byonna bye nnina. Awo ababaka ne bakomawo eri Akabu ne bamugamba nti Benikadadi akugambye nti Kya mazima nnakutumira ne nkugamba nti effeeza yo n'ezaabu yo, ne bakazi bo, n'abaana bo byange; Kale nno enkya mu kiseera nga kino nja kukutumira abaddu bange bafeffette olubiri lwo n'ennyumba za baddu bo; buli ekinabasanyusa kyonna bajja kukitwala. Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita abakadde bonna ab'ensi, n'ayogera nti Mutegeere kaakano era mulabe omusajja ono bw'alina ky'atwagaza: kubanga yantumira olw'abakazi bange n'abaana bange n'effeeza yange ne zaabu yange; ne sigaana. Awo abakadde bonna n'abantu bonna ne bamugamba nti Towuliriza era tokkiriza. Kyeyava agamba ababaka ba Benikadadi nti Gamba mukama wange kabaka nti Byonna bye wasookerako okutumira omuddu wo ndibikola: naye kino sijja kukikola. Ababaka ne baddayo ne bamuddiza ebigambo ebyo. Awo Benikadadi n'amutumira ng'agamba nti Nja kuleeta basajja bange bazikirize Samaliya, bakifuule nfuufu, ereme na kubabuna buli omu okuyoolayo olubatu. Ekyo bwe siikituukirize, bakatonda bambonereze n'obukambwe. Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mumugambe nti Eyeesiba eby'okulwanyisa bye aleme okwenyumiriza ng'oyo abyesumulula. Awo olwatuuka Benikadadi bwe yawulira ekigambo ekyo, ye ne bakabaka abamweggattako, bwe baali nga baanywera omwenge mu weema, n'alagira abaddu be nti Musimbe ennyiriri. Ne basimba ennyiriri okulwana n'ekibuga. Nnabbi n'agenda eri Akabu kabaka wa Isiraeri, n'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olaba eggye lino lyonna eddene? Nja kuligabula mu mukono gwo olwaleero; olyoke omanye nga nze Mukama. Akabu n'abuuza nti Baani abanaalirumba? Nnabbi n'addamu nti Mukama agamba nti Abavubuka n'abamasaza. Kabaka n'abuuza nti Ani anaasooka okulumba mu lutalo? Nnabbi n'addamu nti Ggwe. Awo n'ayita abavubuka n'abamasaza bibiri mu asatu mu babiri (232), n'oluvannyuma n'ayita mu be ggye lya Isiraeri bonna ne bawera kasanvu (7,000). Ne balumba mu ttuntu, nga Benikadadi ne bakabaka asatu mu ababiri (32) abajja okumuyamba mu lutalo, bali mu nsiisira banywa, batamiira. Abavubuka n'abamasaza be baasooka okulumba. Benikadadi n'atuma abakessi, ne bamubuulira nti Waliwo abasajja abavudde mu Samaliya. Benikadadi n'alagira nti Ne bwe baba bajjiridde mirembe, mubawambe; ne bwe baba bajjiridde bulwa, mubawambe. Awo abavubuka n'abamasaza ne bafuluma mu kibuga, n'eggye ne libagoberera. Buli omu kubo n'atta Omusuuli gwe yalwanyisa; Abasuuli ne badduka, Abaisiraeri ne babawondera: Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'addukira ku mbalaasi n'awona wamu n'ab'omu ggye lye abeebagala embalaasi. Kabaka wa Isiraeri n'agenda ne yeetaba mu lutalo, n'awamba embalaasi n'amagaali, n'atta Abasuuli bangi nnyo. Awo nnabbi n'asemberera kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Genda wenyweze, weetegereze olabe by'onookola: kubanga ku ntandikwa y'omwaka ogujja, kabaka w'e Busuuli ajja kuddamu okukulumba. Awo abaddu ba kabaka w'e Busuuli ne bamugamba nti Katonda wa Isiraeri, katonda wa ku nsozi; kye baava batusinga amaanyi: naye tulwanire nabo mu lusenyi, tetulirema kubawangula. Era kola bwoti; ggyawo bakabaka buli muntu mu kifo kye, mu bifo byabwe oseemu abaduumizi: era weebalire eggye eryenkanankana n'eggye lye wafiirwa, embalaasi okudda mu kifo ky'embalaasi, n'eggaali okudda mu kifo ky'eggaali: kale tulirwana nabo mu lusenyi, era tulibawangula. Awo n'awulira eddoboozi lyabwe n'akola bw'atyo. Awo omwaka bwe gwatandika, Benikadadi n'akuŋŋaanya eggye ly'Abasuuli n'agenda mu Afeki okulwanyisa Isiraeri. Eggye ly'Abaisiraeri ne likuŋŋaanyizibwa, ne baweebwa entanda yaabwe ey'emmere, ne bagenda okulwanyisa Abasuuli. Awo ne basiisira okwolekera Abasuuli nga bafaanana ebisibo ebitono bibiri eby'embuzi: naye Abasuuli bo nga baatalaze wonna. Awo omusajja wa Katonda n'agenda eri kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olw'okubanga Abasuuli boogedde nti Mukama katonda wa ku nsozi, so si wa mu biwonvu; kyennava ngabula mu mukono gwo eggye lino lyonna eddene, mulyoke mumanye nga nze Mukama. Awo eggye ly'Abaisiraeri n'Abasuuli ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne balumbagana; Abaisiraeri ne batta abalwanyi Abasuuli abatambuza ebigere kasiriivu kamu (100,000), ku lunaku lumu. Abawonawo ne baddukira mu kibuga Afeki; ate eyo ekisenge gye kyabagwirako, ne kibattamu abantu emitwalo ebiri mu kasanvu (27,000). Ne Benikadadi n'adduka n'agenda mu kibuga Afeki ne yeekukuma mu kisenge eky'omunda. Abaddu be ne bamugamba nti Tuwulidde nga bakabaka b'ennyumba ya Isiraeri ba kisa: tukwegayiridde tukkirize, twesibe ebibukutu mu biwato n'emigwa ku mitwe gyaffe, tugende nga tunakuwadde tufulume eri kabaka wa Isiraeri: oboolyawo anaawonya obulamu bwo. Awo ne beesiba ebibukutu mu biwato ne batikkira emigwa ku mitwe gyabwe, ne bagenda eri kabaka wa Isiraeri, ne bagamba nti Omuddu wo Benikadadi agamba nti Nkwegayiridde, ndekera obulamu bwange. Akabu n'abuuza nti Akyali mulamu? Ye muganda wange. Abasajja abo baali bafuba nnyo okwetegereza ky'anaayogera. Akabu bwe yagamba nti Oyo muganda wange, amangwago ne bakyesibako ne bagamba nti Weewaawo, Ayi kabaka, Benikadadi muganda wo. Akabu n'agamba nti Mugende mumuleete. Benikadadi n'avaayo n'ajja gy'ali. Akabu n'amulinnyisa mu ggaali lye. Awo Benikadadi n'amugamba nti Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo, nze nja kubikuddiza, era bw'oyagala oneezimbira obutale ku nguudo ze Ddamasiko, nga kitange bwe yeerimira mu Samaliya. Nange, bwe yayogera Akabu, naakuta ne ndagaano eno. Awo n'alagaana naye endagaano n'amuta. Awo omusajja omu ow'okubaana ba bannabbi n'agamba munne olw'ekigambo kya Mukama nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'agaana okumufumita. Awo n'amugamba nti Kubanga towulidde ddoboozi lya Mukama, laba, bw'onoobanga kyojje onveeko, empologoma eneekutta. Awo bwe yali nga kyajje amuveeko, empologoma n'emusanga n'emutta. Awo n'asanga omusajja omulala, n'ayogera nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'amufumita n'amuteekako ekiwundu. Awo nnabbi ne yeebikka ekiremba ku maaso ne yeebuzaabuza, n'agenda n'alindirira kabaka ku kkubo. Kabaka bwe yali ayitawo, nnabbi n'amukoowoola, n'agamba nti Nze omuweereza wo bwe nali mu lutalo mu ddwaniro omutabaazi omu n'ava eri n'andeetera omusajja, era n'aŋŋamba nti Kuuma omusajja ono. Bw'alibomba, obulamu bwo bw'olisasulamu obubwe, oba oliriwa talanta nnamba eya ffeeza. Awo omuddu wo bwe yali ng'atawaana wano na wali, omusajja n'abomba. Awo kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Omusango gwe wennyini ggwe ogwesalidde. Awo nnabbi n'ayanguwa n'aggya ekiremba ku maaso ge; kabaka wa Isiraeri n'amutegeera nga y'omu ku bannabbi. Nnabbi n'agamba kabaka nti Mukama agamba nti Nga bwe wata omusajja gwe n'alagira attibwe, n'omuleka n'agenda, obulamu bwo bw'onoosasuza obubwe, n'abantu bo be banadda mu kifo ky'abantu be. Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize, n'agenda e Samaliya. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo waaliwo omusajja Nabosi Omuyezuleeri eyalina olusuku olw'emizabbibu mu Yezuleeri olwali okumpi n'olubiri lwa kabaka Akabu ow'e Samaliya. Awo Akabu n'agamba Nabosi nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu mbeere nalwo okuba olusuku lw'enva, kubanga luli kumpi n'ennyumba yange; nange ndikuwa mu kifo kyalwo olusuku olw'emizabbibu olusinga obulungi: oba bw'onoosiima, ndikuwa ebintu ng'omuwendo gwalwo bwe guli. Awo Nabosi n'agamba nti Akabu nti Kikafuuwe nze okukuwa obusika bwa bajjajjange. Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga yagamba nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. Akabu n'agalamira ku kitanda kye nga atunuulidde ekisenge, n'agaana okulya emmere. Mukazi we Yezeberi n'ajja gy'ali, n'amubuuza nti Kiki ekinakuwazizza obwenkanidde awo, n'otuuka n'obutalya mmere? N'amugamba nti Kubanga njogedde ne Nabosi Omuyezuleeri ne mmugamba nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu olw'ebintu; oba bw'onoosiima, ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olulala mu kifo kyalwo: n'addamu nti Sijja kukuwa lusuku lwange olw'emizabbibu. Yezeberi mukazi we n'amugamba nti Ggwe ofuga nno obwakabaka bwa Isiraeri! situka olye emmere, omutima gwo gusanyuke: nze nja kukuwa olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri. Awo Yezeberi n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ka kabaka, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga Nabosi mwabeera. N'awandiika mu bbaluwa ng'ayogera nti Mulangirire okusiiba, mumuteeke Nabosi mu kifo eky'okumwanjo! muleete abasajja babiri abataliimu nsa, bamulumirize nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukube amayinja afe. Awo abantu b'omu kibuga Yezuleeri, abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza. Awo ne balangirira okusiiba, ne bateeka Nabosi mu kifo eky'okumwanjo. Awo abasajja ababiri abataliimu nsa ne bayingira ne batuula mu maaso ga Nabosi, ne bamulumiriza mu maaso g'abantu nga bagamba nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukuba amayinja n'afa. Awo ne batumira Yezeberi nga boogera nti Nabosi akubiddwa amayinja era afudde. Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawuliranga Nabosi akubiddwa amayinja, era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Situka otwale olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuguza: kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde. Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira Nabosi ng'afudde, n'asituka n'agenda mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri alwetwalire. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti Situka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya: laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okulutwala. Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zirikombera omusaayi ogugwo gwe. Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ongwikirizza, ggwe omulabe wange? Eriya n'addamu nti Nkugwikirizza. Kubanga weewaddeyo okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi, kale kaakano Mukama akugamba nti Nja kukutuusaako akabi, nkusaanyizeewo ddala ggwe Akabu. Era ndimalawo mu Isiraeri buli mwana wo ow'obulenzi omuto n'omukulu. era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri. Era Mukama n'ayogera ne ku Yezeberi nti Embwa ziririira Yezeberi okumpi ne bbugwe we kibuga Yezuleeri. Ow'omu nnyumba ya Akabu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga. Tewali yenkana Akabu okwewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga mukazi we Yezeberi amupikiriza. Akabu n'akolanga eby'emizizo ennyo ng'asinza ebifaananyi byonna, nga Abamoli Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri bwe baakolanga. Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'eyesiba ebibukutu ku mubiri gwe. N'atalya mmere, n'asula mu bibukutu, n'atambula mpola ng'anakuwadde ng'agenda. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti Olabye Akabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kubanga yeetoowaza mu maaso gange, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe gya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye. Awo ne bamala emyaka esatu nga tewali lutalo wakati w'Obusuuli ne Isiraeri. Awo olwatuuka mu mwaka ogwokusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n'agenda eri kabaka wa Isiraeri. Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba abaddu be nti Mumanyi nga Lamosugireyaadi kyaffe, lwaki tusirisse ne tutakiggya mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli? Kabaka wa Isiraeri n'abuuza Yekosafaati nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi okulwana? Yekosafaati n'addamu nti Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo. Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayiridde, sooka weebuuze ku Mukama owulire ky'agamba. Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ng'ebikumi bina (400), n'ababuuza nti Ntabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne baddamu nti Genda; kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka. Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Mukama, tumubuuze? Kabaka wa Isiraeri n'addamu Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwetuyinza okubuulizaamu Mukama, Mikaaya mutabani wa Imula: naye mmukyawa; kubanga tandagulako birungi wabula ebibi. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo. Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omumbowa n'ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imula. Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe. Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo. Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga boogera nti Genda e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka. Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'agamba Mikaaya nti Bannabbi abalala bonna ebigambo bye boogedde ku kabaka birungi. Balanze nti kabaka ajja kuwangula. Nkwegayiridde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere birungi. Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ky'anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera. Awo bwe yatuuka eri kabaka, kabaka n'amubuuza nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? N'amuddamu nti Yambuka olabe omukisa; era Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka. Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka obutambuulira kirala kyonna wabula amazima mu linnya lya Mukama? N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe; baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe. Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Saakugambye nti taalagule birungi ku nze wabula ebibi? Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti Kale wulira ekigambo kya Mukama. Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka, ng'eggye lyonna ery'omu ggulu liyimiridde ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono. Mukama n'abuuza nti Ani anaasendasenda Akabu agende e Lamosugireyaadi attibwe? Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri. Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze n'amusendasenda. Mukama n'agugamba nti Otya? Ne gwogera nti N'afuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. Naayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma okole bw'otyo. Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano bonna: era Mukama akwogeddeko by'akabi. Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'akuba Mikaaya oluyi, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe? Mikaaya n'amuddamu nti Ekyo olikitegeera olwo bwoliyingira mu kisenge eky'omunda okwekweka. Awo kabaka wa Isiraeri n'alagira nti Mukwate Mikaaya mumuzzeyo eri Amoni omukulu w'ekibuga n'eri Yowaasi mutabani wa kabaka; mubagambe nti kabaka alagidde nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe. Awo Mikaaya n'agamba nti Bw'oli komawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze. N'ayongerako nti Muwulire, abantu mmwenna, kye njogedde. Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bagenda e Lamosugireyaadi. Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Nja kwefuula nnyingire mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula n'ayingira mu lutalo. Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaduumizi asatu mu babiri (32) ab'amagaali ge nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula mulwanyise kabaka wa Isiraeri yekka. Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne balowooza nti ye kabaka wa Isiraeri, ne bakyuka okumulwanyisa. Yekosafaati n'alaajana nnyo. Abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, ne bamuleka. Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde n'alasa akasaale, ne kakwasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggaali lye nti Kyusa eggaali lyo onzigye mu lutalo; kubanga nfumitiddwa nnyo. Olutalo ne lunyinyittira nnyo ku lunaku olwo: kabaka ne bamukwatirira mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli: omusaayi ne guva mu kiwundu ne gukulukutira munda mu ggaali: n'afa akawungeezi ako. Enjuba ng'eneetera okugwa, ne kirangirirwa mu ggye lyonna erya Isiraeri nti: Buli muntu addeyo mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kibuga ky'ewaabwe. Bwatyo kabaka n'afa, n'atwalibwa e Samaliya n'aziikibwa. Ne booleza eggaali ku kidiba kye Samaliya, abenzi gye baanabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe ng'ekigambo kya Mukama kye yayogera bwe kyali. N'ebirala byonna Akabu bye yakola, n'ennyumba gye yazimba n'agitimba n'amasanga, n'ebibuga byonna bye yazimba, byawandiikibwa mu kitabo ky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye. Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n'atandika okufuga Yuda mu mwaka ogwokuna ogwa Akabu kabaka wa Isiraeri. Yekosafaati yali awezzeza emyaka asatu mu etaano (35) bwe yalya obwakabaka: n'afugira emyaka abiri mu etaano (25) mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye lyali Azuba muwala wa Siruki. Awo Yekosafaati n'atambuliranga mu kkubo lyonna erya Asa kitaawe; n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ne bootereza obubaane mu bifo ebigulumivu. Era Yekosafaati n'atabagana ne kabaka wa Isiraeri. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati n'amaanyi ge ge yalaga era bwe yalwana byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. N'abaalyanga ebisiyaga abaasigalawo ku mirembe gya kitaawe Asa n'abamalirawo ddala mu nsi. Mu kiseera ekyo, ensi ya Edomu teyalina kabaka, wabula yafugibwanga musigire eyateekebwangawo kabaka wa Yuda. Yekosafaati n'asindika empingu ez'e Talusiisi okugenda e Ofiri okuggyayo zaabu: naye ne zitatuuka kubanga zaamenyekera e Ezyonigeba. Awo Akaziya mutabani wa Akabu n'agamba Yekosafaati nti Abaddu bange bagende mu mpingu ya maato. Naye Yekosafaati n'agaana. Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne Dawudi jjajjaawe: awo Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye. Akaziya mutabani wa Akabu n'atandika kufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu (17) ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'afugira Isiraeri emyaka ebiri. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kkubo lya nnyina ne mu kkubo lya Yerobowaamu mutabani wa Nebati mwe yayonoonyesa Isiraeri. N'aweereza Baali n'amusinza n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri mu ngeri y'emu nga kitaawe bwe yakola. Awo Mowaabu n'ajeemera Isiraeri Akabu ng'amaze okufa. Kabaka Akaziya owa Isiraeri, n'awanuka ku lubalaza olwawaggulu, ku nnyumba ye eyaakalina mu lubiri lwe e Samaliya n'agwa wansi, n'alumizibwa nnyo. N'atuma ababaka, n'abagamba nti, Mugende mulagulwe eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni oba nga ndiwona endwadde eno. Naye malayika wa Mukama n'agamba Eriya Omutisubi nti Golokoka osisinkane ababaka ba kabaka w'e Samaliya obagambe nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyemuva mugenda okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? Kale nno, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Tojja kuva ku kitanda kwe we basse, oja kufa. Eriya n'agenda. Ababaka ne bakomawo gy'ali, n'ababuuza nti Kiki ekibakomezzaawo? Ne bamuddamu nti Waliwo omusajja azze n'atusisinkana n'atugamba nti Muddeyo eri kabaka abatumye, mumugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyova otuma okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? Kyonoova olema okuva ku kitanda kwe we base, ojja kufa. Kabaka n'ababuuza nti Omusajja abasisinkanye n'abagamba ebigambo afaanana atya? Ne bamuddamu nti Musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye. Kabaka n'addamu nti Oyo ye Eriya Omutisubi. Awo kabaka n'atuma omwami wa ataano (50) n'abasajja be ataano (50). N'agenda eri Eriya, n'amusanga ng'atudde ku ntikko y'olusozi. N'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akulagira nti Serengeta ogende gyali. Awo Eriya n'addamu n'agamba omwami wa ataano (50) nti Oba ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano (50). Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano (50). Awo n'atuma nate gy'ali omwami wa ataano (50) omulala n'abasajja be ataano (50). N'addamu n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akulagira nti Yanguwa okuserengeta. Awo Eriya n'addamu n'abagamba nti Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano (50). Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano (50). Awo n'atuma nate omwami wa ataano (50) omulala n'abasajja be ataano (50). Omwami wa ataano (50) ow'okusatu n'ayambuka n'ajja n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eriya, n'amwegayirira n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde, obulamu bwange n'obulamu bwa bano ataano (50) abaddu bo bube bwa muwendo mungi mu maaso go. Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abaami ba ataano (50) bombi abaasoose n'abasajja baabwe ataano (50), naye kaakano obulamu bwange bube bwa muwendo mungi mu maaso go. Awo malayika wa Mukama n'agamba Eriya nti Serengeta naye: tomutya. N'asituka n'aserengeta naye n'agenda eri kabaka. N'amugamba nti Mukama agamba nti Nga bwe watuma ababaka okwebuuza ku Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni, ng'awatali katonda mu Isiraeri, tojja kuva ku kitanda kyogalamidde ko, ojja kufa. Awo Akaziya n'afa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali Eriya kye yayogera nga ayita mu Eriya. Olw'okuba nga Akaziya teyalina mwana wa bulenzi, Yekolaamu muganda we n'atandika okufuga mu kifo kye mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda. N'ebirala byonna kabaka Akaziya bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Awo ekiseera bwe kyatuuka Mukama okutwala Eriya mu ggulu, ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu, Eriya ne Erisa ne bava e Girugaali. Awo Eriya n'agamba Erisa nti Beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Beseri. Erisa n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, naawe nga bwoli omulamu, sijja kukuleka. Awo ne bagenda bombi e Beseri. Awo abaana ba bannabbi abaali e Beseri ne bajja eri Erisa, ne bamubuuza nti Omanyi nga olwaleero Mukama ajja kukujjako mukama wo amutwale? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike. Awo Eriya n'amugamba nti Erisa, beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Yeriko. N'addamu nti Nga Mukama bw'ali omulamu, naawe nga bwoli omulamu, sijja kukuleka. Awo ne bagenda bombi e Yeriko. Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne bajja eri Erisa ne bamubuuza nti Omanyi nga olwaleero Mukama ajja kukujjako mukama wo amutwale? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike. Awo Eriya n'amugamba nti Nkwegayiridde, beera wano; kubanga Mukama antumye e Yoludaani. N'amuddamu nti Nga Mukama bw'ali omulamu, naawe nga bwoli omulamu, sijja kukuleka. Awo bombi ne bagenda. Awo abasajja ataano (50) ab'oku baana ba bannabbi ne bagenda nabo; naye ne basigala walako nga babatunuulidde: Erisa ne Eriya bo ne bayimirira ku mugga Yoludaani. Awo Eriya n'addira omunagiro gwe n'aguzinga wamu n'akuba ku mazzi g'omugga Yoludaani ne geeyawulamu wabiri; bombi ne bayita wakati awakalu ne batuuka emitala w'omugga. Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka Eriya n'agamba Erisa nti Saba kyemba nkukolera nga sinnakuggibwako. Erisa n'ayogera nti Nkwegayiridde emigabo ebiri egy'omwoyo gwo gibeere ku nze. Eriya n'agamba nti Ky'osabye kizibu. Naye bw'onondaba nga nkuggibwako, ng'okifunye. Naye bw'otondabe, olwo nga tokifunye. Awo olwatuuka nga bakyatambula nga balojja, laba ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'atwalibwa mu ggulu embuyaga ezakazimu. Erisa n'akiraba, n'agamba nti Kitange, kitange, gwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Isiraeri, ogenze! N'ataddamu kumulaba. N'atambula nate: n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri. Era n'alonda n'ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'addayo n'ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani. N'addira ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'akuba amazzi n'ayogera nti Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya? Awo ng'amaze okukuba amazzi, ne geyawulaamu wabiri: Erisa n'asomoka. Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko okumwolekera bwe baamulaba, ne boogera nti Omwoyo gwa Eriya guzze ku Erisa. Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge. Awo ne bamugamba nti Laba nno waliwo abasajja ataano (50) ab'amaanyi wamu n'abaddu bo; tukwegayiridde bagende banoonye mukama wo: mpozzi omwoyo gwa Mukama gumusitudde ne gumusuula ku lusozi oba mu kiwonvu. N'abaddamu nti Temugenda. Awo bwe baamwetayirira, ensonyi ne zimukwata, n'agamba nti Kale mugende. Awo ne batuma abasajja ataano (50); ne banoonyeza ennaku ssatu naye ne batamulaba. Awo ne bakomawo e Yeriko eri Erisa ng'akyabalinze; n'abagamba nti Saabagamba nti Temugenda. Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Erisa nti Laba, tukwegayiridde, awali ekibuga kino walungi nga mukama wange bw'alaba: naye amazzi gaawo mabi, n'ettaka terikuza mmere. Erisa n'abagamba nti Muteeke omunnyo mu akasumbi akaggya mukandetere. Ne bakola bwe batyo ne bakaleeta gy'ali. N'afuluma n'ajja awali ensulo y'amazzi, n'asuula omwo omunnyo n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mponyezza amazzi gano; temukyavaamu nate lumbe newakubadde obutakuza mmere. Awo amazzi ne gawona ne leero ng'ekigambo bwe kyali ekya Erisa kye yayogera. Awo n'avaayo n'ayambuka n'agenda e Beseri: awo ng'ali mu kkubo ng'ayambuka abaana abato ne bava mu kibuga ne bamuduulira ne bamugamba nti Yambuka, ggwe ow'ekiwalaata; yambuka, ggwe ow'ekiwalaata. N'akyuka n'abalaba n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Eddubu bbiri enkazi ne ziva mu kibira ne zitaagula abaana ana mu babiri (42) ku bo. Awo n'avaayo n'agenda eri olusozi Kalumeeri, n'avaayo n'akomawo e Samaliya. Awo Yekolaamu mutabani wa Akabu n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; naye teyenkana kitaawe na nnyina mukwonoona kubanga yaggyawo empagi ya Baali kitaawe gye yakola. Naye n'atambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ebyaleetera Isiraeri okwonoona. Mesa kabaka wa Mowaabu yali musumba wa ndiga; era buli mwaka yawangayo eri kabaka wa Isiraeri ebyoya by'abaana b'endiga akasiriivu kamu (100,000) n'eby'endiga ennume nabyo akasiriivu kamu (100,000). Awo olwatuuka Akabu bwe yafa kabaka wa Mowaabu n'ajeemera kabaka wa Isiraeri. Kabaka Yekolaamu n'ava mu Samaliya, n'akuŋŋaanya eggye lye mu Isiraeri yonna. N'atumira Yekosafaati kabaka wa Yuda n'agamba nti Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Onoonneegattako mu lutalo okumulwanyisa? Kabaka Yekosafaati n'addamu nti Weewaawo, nja kukwegattako. Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo. N'amubuuza nti Tunaayambuka mu kkubo ki? Yekolaamu n'amuddamu nti Ekkubo eridda mu ddungu ery'e Edomu. Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu nga bagenda beetooloola. Ne wataba mazzi ga kuwa wadde ensolo ze baali nazo. Kabaka wa Isiraeri n'agamba nti Zitusanze! Mukama atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu okutugabula mu mikono gya Mowaabu. Naye Yekosafaati n'abuuza nti Tewali wano nnabbi wa Mukama gwetuyinza kuyitamu okubuuza Mukama? Awo omu ku baddu ba kabaka wa Isiraeri n'addamu nti Waliwo wano Erisa mutabani wa Safati eyali omuddu wa Eriya. Awo Yekosafaati n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kiri naye. Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne bagenda eri Erisa. Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nnina nkolagana ki naawe? Genda eri bannabbi bakitaawo ne bannabbi ba nnyoko. Kyokka kabaka wa Isiraeri n'addamu nti Nedda, sijja kugenda eyo, kubanga Mukama akuŋŋaanyizza bakabaka bano abasatu okubagabula mu mukono gwa Mowaabu. Erisa n'ayogera nti Nga Mukama w'eggye bw'ali omulamu gwe nnyimirira mu maaso ge, singa si Yekosafaati kabaka wa Yuda ali wano, ggwe salikufuddeko era sandikulabye. Naye kale ndeetera omukubi w'ennanga. Awo olwatuuka omukubi w'ennanga bwe yakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gajja ku Erisa. N'agamba nti Mukama agamba nti Ekiwonvu ekikalu nja ku kijjuza enzizi z'amazzi. Mukama ayongera n'agamba nti Temujja kulaba ku mbuyaga, era temujja kulaba ku nkuba. Naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi, munywe mmwe n'ensolo zammwe. Ate nno ekyo kitono nnyo mu maaso ga Mukama. Era ajja kuwaayo Abamowaabu mu mikono gyammwe. Mujja kumenya buli kibuga ekiriko buggwe omugumu, na buli kibuga ekirabika obulungi, muteme buli muti omulungi, muzibe enzizi zonna ez'amazzi era mwonoone buli musiri omulungi nga mugujjuzamu amayinja. Awo olwatuuka enkeera mu kiseera eky'okuwaayo ekitone, amazzi ne gajjura mu kitundu ekyo kyonna. Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka abasatu bazze okubalwanyisa, ne bakuŋŋaanya bonna abakulu n'abato abaali bayinza okubagalira eby'okulwanyisa, ne baleetebwa ku nsalo. Abamowaabu bwe baagolokoka enkeera mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi agaboolekedde, ne balaba nga gamyuse ng'omusaayi. Awo Abamowaabu ne boogera nti Guno musaayi! Mazima bakabaka baalwanaganye, abantu baabwe bonna ne battiŋŋana. Naye bwe baatuka ku lusiisira lwa Isiraeri, Abaisiraeri ne basituka ne bakuba Abamowaabu ne babatwala entyagi. Abamowaabu ne badduka, Abaisiraeri ne babawondera okubatuusiza ddala mu nsi yaabwe nga bagenda babatta. Abaisiraeri ne bazikirizza ebibuga, buli omu n'akasuka ejjinja mu bulime obulungi okutuusa nga babujjuzza amayinja, ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi. Mu Kirukaleseesi mwokka mwe baleka amayinja gaamu, naye ab'envuumuulo ne bakyetooloola, ne bakiwangula. Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng'olutalo lumugendedde bubi, n'atwala abasajja lusanvu (700) abalwanyisa ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, kyokka ne batayinza. Awo kabaka wa Mowaabu n'addira mutabani we omubereberye eyandifuze mu kifo kye, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku bbugwe. Ekyo ne kitiisa nnyo aba Isiraeri ne balekera awo okulwana ne baddayo mu nsi yaabwe. Awo omukazi omu ow'oku bakazi b'abaana ba bannabbi n'awanjagira Erisa ng'agamba nti Omuweereza wo, baze yafa. Era omanyi omuweereza wo oyo nga bwe yali assamu ennyo Mukama ekitiibwa. Naye kaakano omuntu eyali amubanja azze okutwala abaana bange bombi abafuule abaddu be. Erisa n'amubuuza nti Oyagala nkukolere ki? Mbuulira: olina ki mu nnyumba yo? Nnamwandu n'addamu nti Omuzaana wo talina kintu okujjako akasumbi k'amafuta. Awo Erisa n'amugamba nti Genda mu banno weyazike ebintu ebyereere bingiko. Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, otereke ebijjudde. Awo n'ava aw'ali Erisa n'agenda ne yeggalira ne batabani ne bamuleetera ebintu n'akwata akasumbi ak'amafuta, n'attululira mu bintu. By'attuliramu bwe byajjula n'agamba omu ku batabani be nti Ndeetera eky'okuttululiramu ekirala. Omwana n'amugamba nti Tewakyali kittululirwamu kirala. Awo amafuta ne gakoma. Awo omukazi n'agenda n'abuulira omusajja wa Katonda, ye n'amugamba nti Genda otunde amafuta osasule ebbanja lyo, aganaafikkawo gukuliisenga ggwe ne batabani bo. Olunaku lwali lumu Erisa n'atambula n'agenda e Sunemu. Eyo waaliyo omukazi omugagga, ne yeegayirira Erisa okulya ku mmere mu maka ge. Era okuva olwo, Erisa buli lwe yakwatanga ekkubo eryo, yagendanga n'alya ku mmere mu maka ago. Omukazi oyo n'agamba bba nti Kaakati ntegedde ng'omusajja ono atera okujja wano muntu wa Katonda. Nkwegayiridde tukookere ku nnyumba yaffe ekisenge tumuteeremu ekitanda n'emmeeza, entebe n'etabaaza, bwanajjanga gyetuli asulenga omwo. Lwali lumu Erisa n'ajja n'asulanga mu kisenge ekyo. Erisa n'agamba Gekazi omuddu we nti Yita Omusunammu oyo. Awo n'amuyita n'ajja gyali. Erisa n'agamba Gekazi nti Mugambe nti Otutawaanidde nnyo n'otulabirira okwenkana awo. Olina ky'oyagala naffe tukukolere? Oyagala tubeeko ekirungi kye tukwogerera ewa Kabaka oba ew'omukulu w'eggye? Omukazi n'addamu nti Siriiko kyeneetaaga kubanga ndi wano mu bantu bange. Erisa n'abuuza Gekazi nti Kale kiki kye mba mmukolera? Gekazi n'addamu nti Mukazi wattu talina mwana wa bulenzi ate ne bba mukadde. N'amugamba nti Muyite. Awo bwe yamuyita, omukazi najja n'ayimirira ku mulyango. Erisa n'amugamba nti Mu kiseera nga kino omwaka ogujja, oliba olera omwana owuwo ow'obulenzi. Omukazi n'addamu nti Nedda, mukama wange, ggwe oli musajja wa Katonda, tolimba muzaana wo. Awo omukazi n'aba olubuto era mu kiseera ng'ekyo mu mwaka ogwaddirira n'azaala omwana ow'obulenzi nga Erisa bwe yamugamba. Awo olwatuuka omwana bwe yakula, lumu n'agenda eri kitaawe eyali mu nnimiro ng'ali n'abakunguzi. N'akaabirira kitaawe nti Omutwe gunzita, omutwe gunzita! Kitaawe n'agamba omuweereza nti Musitule omutwale ewa nnyina. Omuweereza n'amusitula n'amutwala ewa nnyina. Nnyina n'amulera. Bwe bwatuuka mu ttuntu, omwana n'afa. Nnyina n'amwambusa, n'amugalamiza ku kitanda ky'omusajja wa Katonda, n'amuggaliramu, n'afuluma. N'ayita bba, n'agamba nti Nkwegayiridde, mpeereza omu ku bavubuka, n'emu ku ndogoyi ŋŋende bunnambiro ew'omusajja wa Katonda, nkomewo mangu. Omukazi n'atandiika endogoyi, n'agamba omuddu nti, Goba endogoyi eyanguwe. Totta ku bigere okuggyako nga nze nkugambye. Awo n'atandiika endogoyi n'agamba omuddu we nti Goba otambule; totta ku bigere wabula nga nkugambye. Awo n'agenda n'atuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi Kalumeeri. Omusajja wa Katonda bwe yalengera omukazi oyo ng'akyali wala, n'agamba Gekazi omuddu we nti Laba omukazi Omusunammu wuuyo. Dduka mbiro, omusisinkane, omubuuze nti Oli bulungi? Ne balo ali bulungi? N'omwana ali bulungi? Omukazi n'addamu nti Bulungi. Kyokka bwe yatuuka ku lusozi omusajja wa Katonda w'ali, n'amukwata ku bigere. Gekazi n'asembera okumusikawo, naye omusajja wa Katonda n'agamba nti Muleke, kubanga omutima gwe munakuwavu. Ate Mukama akinkisizza n'atambuulira. Omukazi n'agamba nti Nze nnakusaba omwana ow'obulenzi? Saakugamba nti Tonnimba. Awo Erisa n'agamba Gekazi nti Yanguwa mangu okwate omuggo gwange, ogende. Bw'osanga omuntu mu kkubo, tomulamusa. Era bwe wabaawo akulamusa, tomuddamu. Bw'onootuuka omuggo gwange oguteeke ku mwana. Nnyina w'omwana n'agamba nti Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako. Erisa n'asituka, n'agenda naye. Awo Gekazi n'ayanguwa n'abasokayo. N'ateeka omuggo ku maaso g'omwana. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde okuwulira. Kyeyava akomawo n'abasisinkana, n'agamba Erisa nti, Omwana tazuukuse. Erisa bwe yayingira mu kisenge kye, n'alaba omwana ng'afudde era ng'agalamiziddwa ku kitanda kye. Awo ne yeggalira mu kisenge omuli omwana, n'asaba Mukama. N'agalamira ku mwana n'ateeka akamwa ke ku kamwa k'omwana, n'amaaso ge ku maaso g'omwana, n'ebibatu bye ku bibatu by'omwana, n'amwegololerako, omubiri gw'omwana n'egubuguma. Erisa n'asooka asitukawo, n'atambulatambula mu kisenge, n'addayo ne yeegolorera ku mwana. Omwana n'ayasimula emirundi musanvu, n'azibula amaaso. Erisa n'ayita Gekazi n'amugamba nti Yita Omusunammu oyo. Gekazi n'amuyita. Omukazi bwe yayingira Erisa n'amugamba nti Omwana wo wuuyo. Omukazi n'ajja n'avuunama kumpi n'ebigere bya Erisa, n'akutama wansi, n'asitulawo omwana we, n'afuluma. Awo Erisa n'agenda nate e Girugaali ng'enjala ebunye mu nsi. Abaana ba bannabbi ne batuula mu maaso ge n'alagira abaddu be nti Muteekeko entamu ennene, mubafumbire eby'okulya. Awo omu n'afuluma n'agenda ku ttale okunoga amaboga, n'asanga omuzabbibu ogw'omu nsiko, n'anogako amaboga ag'omu nsiko n'ajjuza olugoye lwe, n'ajja n'agasalirasalira mu ntamu erimu eby'okulya, naye nga tebagamanyi. Ne bajjulira abantu okulya. Naye olwalyako, ne baleekaana nti Ayi omusajja wa Katonda, mu ntamu mulimu obutwa! Ne batayongera kulya. Erisa n'abagamba nti Kale mundeetere obutta, n'abusuula mu ntamu; n'alyoka abagamba nti Mujjulire abantu eby'okulya. Eby'okulya ne birongooka. Erisa n'agamba omuddu we nti, Abantu bawe balye. Omuddu we n'amuddamu nti, Owa, buno bwokka bwemba nteeka mu maaso g'abasajja ekikumi (100)! Lwali lumu ne wajjawo omusajja eyava e Baalusalisa, ngatadde mu nsawo ye ebirimba by'eŋŋano ebyengevu n'emigaati abiri (20) egya bbaale eyasookera ddala mu makungula ge, n'abireetera omusajja wa Katonda. Erisa n'agamba omuweereza we nti: Biwe abantu balye. Omuweereza we n'agamba nti Nkole ntya! Buno bwokka bwe mba mpa abantu ekikumi (100). Erisa n'addamu nti: Abantu bawe balye, kubanga Mukama agamba nti Bajja kulya balemerwenawo! Omuweereza n'ateeka eby'okulya ebyo mu maaso gaabwe, ne balya ne balemerwawo, nga Mukama bwe yagamba. Naamani omukulu w'eggye lya kabaka w'e Busuuli yali muntu wa kitiibwa era omuganzi ennyo eri mukama we, kubanga olwa Naamani oyo, Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi: era yali musajja wa maanyi era omuzira, kyokka yali mugenge. Awo Abasuuli bwe bataabaala Isiraeri banyagayo omuwala omuto eyaweerezanga muka Naamani. Lwali lumu omuwala oyo n'agamba mugole we nti Singa mukama wange agenze eri nnabbi mu Samaliya, kale yaliwonyeza ebigenge bye. Awo Naamani n'agenda abuulira mukama we ebigambo omuwala eyanyagibwa mu Isiraeri byayogedde. Kabaka wa Busuuli n'agamba nti Kale genda. Nja kuwandiikira kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ogimutwalire. Awo Naamani n'agenda ng'atutte talanta kkumi (10) eza ffeeza, n'ebitundu kakaaga (6,000) ebya zaabu, n'emigogo kkumi (10) egy'ebyambalo. N'aleetera kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ng'esoma bw'eti Ebbaluwa eno ng'etuuseko, ya ku kwanjulira omukungu wange Naamani gwe nkuweerezza omuwonye ebigenge bye. Awo olwatuuka kabaka wa Isiraeri bwe yasoma ebbaluwa, n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Nze Katonda nzite era nnamye, omusajja ono n'okutuma n'antumira okuwonya omuntu ebigenge bye? Naye mulowooze, mbeegayiridde, mutegeere bw'anesonsako okuyomba nange! Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Isiraeri ayuzizza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'amutumira ng'agamba nti Lwaki oyuzizza ebyambalo byo olw'okusoberwa? Musindike ajje eno gye ndi alyoke amanye nga mu Isiraeri bwe mulimu nnabbi. Awo Naamani n'ajja n'embalaasi ze, n'amagaali ge, n'asibira ku mulyango gw'ennyumba ya Erisa. Erisa n'amutumira omubaka okumugamba nti Genda onaabe emirundi musanvu mu Mugga Yoludaani, ojja kuwona obe mulongoofu. Kyokka Naamani n'akyuka okuddayo nga bwatolotooma nti Kale laba! mbadde ndowooza ng'anaavaayo n'ayimirira wendi n'eyeegayirira Mukama Katonda we, n'ayisaayisa engalo z'e awali ebigenge, n'amponya! Emigga Abana ne Falufali egy'e Ddamasiko tegiriimu mazzi agasinga amazzi ga Isiraeri gonna obulungi? Siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu? N'akyuka n'agenda ng'aliko obuswandi. Abaddu be ne bamusemberera ne bamugamba nti Ssebo, singa nnabbi akugambye okukola ekintu ekinene, tewandikikoze? Naye kino si kyangu nnyo bw'akugamba okunaaba obe mulongoofu? Awo Naamani n'aserengeta, ne yennyika mu Mugga Yoludaani emirundi musanvu, ng'omusajja wa Katonda bwe yamugamba, n'awonera ddala, omubiri gwe ne gubeera ng'ogw'omwana omuto. Awo Naamani n'addayo ew'omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ayimirira mu maaso ge, n'agamba nti Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda wa Isiraeri ye katonda w'ensi zonna, teri mulala. Kale nkwegayiridde okkirize nkuwe ekirabo, nze omuweereza wo kye nkuleetedde. Erisa n'agamba nti Mu mazima, nga Mukama gw'empeereza bw'ali omulamu, sijja kubaako kintu na kimu kye ntwala. N'amwegayirira nnyo okukitwala, kyokka ye n'agaana. Awo Naamani n'agamba nti Oba okigaanyi, nkwegayiridde ompe ettaka eriyinza okwetikkibwa ennyumbu bbiri, nditwale ewaffe, kubanga okuva kati, nze omuddu wo, siiwengayo ebiweebwayo ebyokebwa eri bakatonda abalala okujjako eri Mukama. Naye mu kino, Mukama ansonyiwenga nze omuweereza wo, bwe nnaawerekeranga mukama wange kabaka wa Busuuli okugenda mu ssabo lya Limmoni katonda wa Busuuli, okusinzizaayo. Bwe nnaavunamanga mu ssabo lya Limmoni, Mukama asonyiwenga mu ekyo. Erisa n'amugamba nti Genda mirembe. Ne baawukana, Naamani n'agenda. Yali yaakatambulako katono, Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n'agamba nti Laba, mukama wange bw'aleese Naamani ono Omusuuli okugenda n'atamuggyako ebyo byeyaleeta! Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, nja kudduka, mmugoberere, mbeeko kye mmuggyako. Awo Gekazi n'agoberera Naamani. Awo Naamani bwe yalaba amugoberera, n'ava mu ggaali lye okumusisinkana, n'amubuuza nti Mirembe? N'amuddamu nti Mirembe. Mukama wange antumye ng'ayogera nti Mu kaseera kano abaddu babiri ku b'ekibiina kya bannabbi kye bajje bantuukako nga bava mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu; nkwegayiridde, obawe talanta emu eya ffeeza n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri. Awo Naamani n'amugamba nti Kkiriza, otwale talanta bbiri. N'amwegayirira, n'asiba talanta bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri wamu n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri, n'abitikka abaddu be babiri, ne babitwala nga bakulembeddemu Gekazi. Awo bwe yatuuka ku lusozi, n'abibajjako n'abitereka mu nnyumba n'abasindika baddeyo ewa Naamani. Awo Gekazi n'ayimirira mu maaso ga mukama we. Erisa n'amubuuza nti Ova wa, Gekazi? N'amuddamu nti Omuddu wo taliiko gy'agenze. Erisa n'amugamba nti Omutima gwange tegugenze naawe omusajja bw'akyuse okuva mu ggaali lye okukusisinkana? Kino kye kiseera eky'okwefunira ensimbi n'ebyambalo, n'ennimiro ez'emizeyituuni n'emizabbibu, n'endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana? Kale nno ebigenge bya Naamani binakukwata ggwe era binaabanga n'ezzadde lyo emirembe gyonna. Gekazi n'ava aw'ali Erisa nga mugenge atukula ng'omuzira. Awo abaana ba bannabbi ababeeranga ne Erisa lwali lumu ne bamugamba nti Ekifo kye tulimu kituyinze obufunda. Tukwegayiridde tukkirize tugende ku mugga Yoludaani tutemeyo buli muntu omuti gumu twezimbirewo ekifo ekigazi. N'addamu nti Mugende. Omu ku bo n'amugamba nti Kkiriza ogende n'abaddu bo. N'addamu nti Kale n'agenda. Awo n'agenda nabo. Awo bwe baatuuka ku Yoludaani, ne batema emiti. Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'egwa mu mazzi: n'akaaba ng'aleekaana nti Zinsanze, mukama wange! kubanga embazzi ebadde nneeyazike. Omusajja wa Katonda n'abuuza nti Egudde wa? N'amulaga ekifo. Erisa n'atema omuti n'abbulukusa ekyuma. N'amugamba nti Gikwate. N'agolola omukono gwe n'agikwata. Awo kabaka w'e Busuuli n'alwana ne Isiraeri; n'ateesa n'abaddu be ng'ayogera nti Egindi ye eriba olusiisira lwange. Omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Weekuume oleme okuyita egindi; kubanga eyo Abasuuli gye basiisidde. Kabaka wa Isiraeri n'atuma mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yali amubuuliddeko ng'amulabula. Emirundi mingi, kabaka n'awona okutuukibwako akabi mu kifo ekyo. Ekyo n'ekyeralikiriza nnyo kabaka n'asoberwa. N'ayita abakungu be n'ababuuza nti Ani ku mmwe ali ku lwa kabaka wa Isiraeri atulyamu olukwe? Omu ku baddu be n'addamu nti Nedda, mukama wange, ayi kabaka; naye Erisa nnabbi ali mu Isiraeri ye abuulira kabaka wa Isiraeri ebigambo by'oyogerera mu kisenge ky'osulamu. N'agamba nti Mugende mulabe gy'ali, ndyoke ntume mukwate. Ne bamubuulira nti, Ali mu Dosani. Awo n'asindikayo eggye ddene, embalaasi n'amagaali: ne ligenda kiro ne lizingiza ekibuga. Awo omuddu w'omusajja wa Katonda bwe yagolokoka enkya n'afuluma, laba, eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. Omuddu we Erisa n'amugamba nti Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya? Erisa n'addamu nti Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali ku ludda lwabwe. Erisa n'asaba n'agamba nti Mukama wange, nkwegayiridde, zibula amaaso ge alabe. Awo Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi; n'alaba, olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali ag'omuliro ageetoolodde Erisa. Awo eggye ly'Abasuuli bweryaserengeta okulumba Erisa n'asaba Mukama ng'agamba nti Nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano. N'aziba amaaso gaabwe ng'ekigambo kya Erisa bwe kyali. Erisa n'abagamba nti Lino si lye kkubo so ne kino si kye kibuga: mungoberere nange n'abatuusa eri omusajja gwe munoonya. N'abatwala e Samaliya. Awo olwatuuka bwe baatuuka mu Samaliya, Erisa n'ayogera nti Mukama wange, zibula amaaso g'abantu bano balabe. Awo Mukama n'azibula amaaso gaabwe ne balaba; kale, laba, nga bali mu Samaliya wakati. Awo kabaka wa Isiraeri bwe yabalaba, n'abuuza Erisa nti Kitange, mbatte? Mbatte? Erisa n'addamu nti Nedda tobatta, oyagala okubatta, obawambye mu lutalo? Bawe emmere n'amazzi, balye era banywe, obaleke baddeyo ewa mukama waabwe. Kabaka wa Isiraeri n'abakolera embaga nnene. Bwe baamala okulya n'okunywa, kabaka n'abasiibula ne baddayo ewa mukama waabwe. Okuva olwo, ebibinja bya Busuuli ne bikoma okujjanga mu nsi ya Isiraeri. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n'agenda n'azingiza ekibuga Samaliya. Awo mu Samaliya nga mulimu enjala nnyingi: kale, laba ne bakizingiza okutuusa lwe baatunda omutwe gw'endogoyi olw'ebitundu eby'effeeza kinaana (80), n'ekitundu ekyokuna eky'ekibya ekyakalimbwe wa Mayiba ne bakitunda ebitundu by'effeeza bitaano (500). Awo kabaka wa Isiraeri bwe yali ng'ayita ku bbugwe, omukazi n'amukaabirira nti Mbeera, mukama wange, ayi kabaka. Kabaka n'amuddamu nti Mukama bw'ataakuyambe, nze nnaggya wa eby'okukuyamba? Mu gguuliro nantiki mu ssogolero? Kabaka n'amubuuza nti Obadde ki? N'amuddamu nti Mukazi munnange ono yaŋŋamba nti Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye olwaleero, olwenkya tulyoke tulye owange! Ne tufumba omwana wange, ne tumulya. Ku lunaku olwaddako ne mmugamba nti Waayo omwana wo tumulye, kyokka omwana owuwe amukwese! Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala; abantu abali awo ku bbugwe ne balaba kabaka ng'ayambadde ebibukutu olw'okunakuwala. N'agamba nti Katonda ambonereze n'obukambwe, Erisa mutabani wa Safati bw'ataatemweko omutwe olwaleero! Kabaka n'atumira Erisa omubaka. Mu kiseera ekyo Erisa yali wuwe eka n'abakadde abaali bazze okumulaba. Omubaka wa kabaka yali tannatuuka, Erisa n'agamba abakadde abo nti Mulabye omutemu ono bw'atumye bantemeko omutwe? Kale omubaka we bw'anajja, muggaleewo oluggi mulunyweze aleme kuyingira. Ne kabaka yennyini ajja kuba nga amuvaako emabega. Yali ng'akyayogera nabo, kabaka n'atuuka w'ali n'agamba nti Mukama ye atutuusizzaako akabi kano. Kale lwaki nnyongera okulindirira Mukama ky'anaakola? Awo Erisa n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya Mukama: bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Enkya mu budde nga buno ku wankaaki wa Samaliya, ekigero ky'obutta obulungi kinagula sekeri, n'ebigero bya sayiri bibiri nabyo binatundiibwa sekeri. Awo omwami wa kabaka ow'okulusegere n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyo tekiyinza kubaawo. Erisa n'addamu nti Ojja kukirabira ddala n'amaaso go, naye ebyo tojja kubiryako. Wabweru ku wankaaki awayingirirwa waaliwo abasajja bana abagenge ne bagambagana nti Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tulifa? Bwe tugamba nti Tuyingire mu kibuga, ekibuga kirimu enjala, ejja kututtirayo. Bwe tusigala wano, era tujja kufa. N'olwekyo mujje tugende mu lusiisira lw'Abasuuli. Bwe banaatuleka nga tuli balamu, olwo tunaaba balamu. Bwe banaatutta, kale tunaafa. Awo ne bagolokoka ekiro okugenda mu lusiisira olw'Abasuuli: awo bwe baatuuka ku lusiisira olw'Abasuuli, ne batasangayo muntu yenna. Kubanga Mukama yali awulizza eggye ly'Abasuuli eddoboozi ly'amagaali n'eddoboozi ly'embalaasi, eddoboozi ly'eggye eddene: ne bagambagana nti, Kabaka wa Isiraeri apangisizza amaggye ga bakabaka b'Abakiiti n'Abamisiri okututabaala. Awo ne bagolokoka ne badduka kiro, ne baleka eweema zaabwe n'embalaasi zaabwe, n'endogoyi zaabwe, olusiisira nga bwe lwali, ne badduka olw'obulamu bwabwe. Awo abagenge abo bwe baatuuka ku lusiisira, ne bayingira mu weema emu ne balya ne banywa, ne baggyamu effeeza n'ezaabu n'ebyambalo, ne bagenda ne babikweka; ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggya n'omwo ne bagenda ne bakweka. Awo ne bagambagana nti Tetukola bulungi: leero lunaku lwa bigambo birungi naffe tusirika: bwe tunaalindirira obudde ne bukya, tunajjirwa okubonerezebwa: kale nno mujje tugende tubuulire ab'omu nnyumba ya kabaka. Awo ne bagenda ne bakoowoola omuggazi w'ekibuga: ne bamugamba nti Twagenze mu lusiisira lw'Abasuuli, netutasangayo muntu yenna wadde okuwulirayo eddoboozi ly'omuntu yenna, naye embalaasi n'endogoyi nga zisibiddwa n'eweema nga zirekeddwa awo ttayo. Awo n'ayita abaggazi; ne babuulira ab'omu nnyumba ya kabaka munda. Awo kabaka n'agolokoka kiro n'agamba abaddu be nti Kaakano n'abategeeza olukwe Abasuuli lwe bakoze. Bamanyi ng'enjala etuluma; kyebavudde bava mu lusiisira okwekweka mu nsiko nga boogera nti Bwe banaava mu kibuga tunaabawamba nga balamu, ne tuyingira mu kibuga. Omu ku baddu ba kabaka n'agamba nti Abantu abasigadde mu kibuga kyenkana balinga abafu, n'olwekyo tutume abasajja n'embalaasi ettaano ezisigaddewo bazuule ekiriwo. Awo ne batwala amagaali abiri n'embalaasi; kabaka n'abatuma okuketta eggye ly'Abasuuli, ne bagamba nti Mugende mulabe. Ne babagoberera okutuuka ku Yoludaani: ne basanga nga ekkubo lyonna nga lijjudde ebyambalo n'ebintu Abasuuli bye basudde nga badduka. Ababaka ne bakomawo ne babuulira kabaka. Awo abantu ne bafuluma ne banyaga olusiisira olw'Abasuuli. Awo ekigero ky'obutta obulungi ne babutunda sekeri, n'ebigero ebya sayiri bibiri sekeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. Awo kabaka n'assaawo omwami we ow'okulusegere okulabirira wankaaki, abantu ne bamulinnyiririra mu mulyango n'afa ng'omusajja wa Katonda bwe yayogera, kabaka ng'agenze gy'ali. Awo ne kituukirira ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti Ebigero ebya sayiri bibiri bya sekeri, n'ekigero ky'obutta obulungi kya sekeri, bwe kiriba bwe kityo mu mulyango gwe Samaliya enkya obudde nga buno; omwami oyo n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Mukama ne bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekikulu ekyenkanidde awo tekiyinza kubaawo. Naye omusajja wa katonda n'amuddamu nti olikiraba n'amaaso go, naye tolibiryako: Ekigambo ekyo ne kituukirira bwe kityo; kubanga abantu baamulinnyiririra mu mulyango n'afa. Erisa yali agambye omukazi gwe yazuukiriza omwana we ng'ayogera nti Situka ogende ggwe n'ennyumba yo obeere yonna yonna gy'oliyinza okubeera: kubanga Mukama ajja kuleeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu. Awo omukazi n'asituka n'akola ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: n'agenda ye n'ab'omunnyumba ye yonna, n'abeera mu nsi y'Abafirisuuti okumala emyaka musanvu. Awo olwatuuka emyaka omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'akomawo ng'ava mu nsi y'Abafirisuuti: n'agenda eri kabaka n'amusaba okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Yasanga kabaka ayogera ne Gekazi omuddu wa Erisa omusajja wa Katonda ng'agamba nti Nkwegayiridde, mbuulira byonna ebikulu Erisa bye yakola. Gekazi bwe yali abuulira kabaka nga Erisa bwe yazuukiza omuntu eyali afudde, omukazi oli Erisa gwe yazuukiriza omwana we n'atuuka mu kaseera ako, n'akaabirira kabaka ng'amwegayirira okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Gekazi n'agamba nti, Ayi kabaka, ono ye mukazi, n'ono ye mwana we, Erisa gwe yazuukiza. Kabaka n'abuuza omukazi bwe byali, omukazi n'amubuulira byonna. Kabaka n'amuteekako omukungu gwe yalagira nti Omukazi ono muddize byonna ebyali ebibye, n'omuwendo ogugya mu bibala byonna ebyava mu kibinja kye, ebbanga lyonna lye yamala nga taliiwo. Awo Erisa n'ajja e Ddamasiko; era Benikadadi kabaka w'e Busuuli yali ng'alwadde; Benikadadi ne bamubuulira nti Omusajja wa Katonda azze eno. Kabaka n'agamba Kazayeeri nti Twala ekirabo ogende osisinkane omusajja wa Katonda, omusabe atubuulize eri Mukama oba nga Ndiwona obulwadde buno. Awo Kazayeeri n'agenda okusisinkana Erisa, ng'atutte ku bintu byonna ebirungi eby'omu Ddamasiko, ekirabo ekyetikkiddwa eŋŋamira ana (40). Bwe yatuuka awali Erisa, ne yeeyanjula ng'agamba nti Omwana wo Benikadadi, kabaka w'e Busuuli antumye gy'oli ng'abuuza oba ng'anaawona obulwadde obumuluma. Erisa n'amuddamu nti Genda omugambe nti ddala ajja kuwona obulwadde obumuluma; naye Mukama antegeezezza nga talirema kufa. Awo Erisa n'atunuulira Kazayeeri enkaliriza, okutuusa Kazayeeri ensonyi lwe zaamukwata. Erisa omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga. Awo Kazayeeri n'amubuuza nti Mukama wange okaabira ki? Erisa n'addamu nti Kubanga mmanyi obubi bw'olikola abaana ba Isiraeri: ebigo byabwe olibyokya omuliro, abalenzi baabwe olibatta n'ekitala, olitta abaana baabwe abato, era olibaaga abakazi baabwe abali embuto. Awo Kazayeeri n'ayogera nti Omuddu wo kye ki, embwa obubwa, akukola ekigambo ekyenkanidde awo? Erisa n'addamu nti Mukama antegeezezza nga gw'oliba kabaka w'e Busuuli. Awo n'ava eri Erisa n'addayo eri mukama we; Benikadadi n'amubuuza nti Erisa akugambye ki? N'addamu nti Aŋŋambye nti Ojja kuwona. Kyokka enkeera Kazayeeri n'addira bulangiti n'aginnyika mu mazzi n'agimuteeka ku nnyindo n'omumwa, kabaka n'afa ekiziyiro. Kazayeeri n'afuga mu kifo kye. Awo mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, Yekosafaati nga ye kabaka wa Yuda mu biro ebyo, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'atanula okufuga. Yali awezzezza emyaka asatu mu ebiri (32) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. N'atambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: era n'awasa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. Naye Mukama teyayagala kuzikiriza Yuda kubanga yasuubiza omuddu we Dawudi ng'ab'ezadde lye banaafuganga obwakabaka obwo emirembe gyonna. Ku mirembe gya Yekolaamu Edomu n'ajeemera Yuda ne beeterawo kabaka. Yekolaamu n'agenda e Zayiri n'amagaali ge gonna. Eggye ly'Abaedomu ne limuzingiza. Ekiro, ye n'abaduumizi b'amagaali ge ne basobola okuwaguza, abasserikale be ne badduka, buli omu n'adda gy'abeera. Edomu n'ejeemera Yuda n'okutuusa kati. Era mu kiseera ekyo, n'ekibuga Libuna ne kijeema. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekolaamu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Awo Yekolaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'atandika okufuga. Yali aweza emyaka abiri mu ebiri (22) bwe yatandika okufuga; n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli kabaka wa Isiraeri. N'atambulira mu kkubo ly'ennyumba ya Akabu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu. Kabaka Akaziya n'agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu. Awo kabaka Yolaamu n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'agenda e Yezuleeri okulaba Yolaamu mutabani wa Akabu obulwadde. Awo Erisa nnabbi n'ayita omu ku baana ba bannabbi n'amugamba nti Weesibe ekimyu otwale eccupa eno ey'amafuta ogende e Lamosugireyaadi. Kale bw'olituukayo onoonye Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi, oyingire mu nnyumba mwali, omuggye mu baganda be, omuyingize mu kisenge eky'omunda. Olyoke oddire eccupa ey'amafuta ogafuke ku mutwe gwe oyogere nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. Olyoke oggulewo oluggi odduke so tolwanga. Awo Nnabbi oyo omulenzi, n'agenda e Lamosugireyaadi. Awo bwe yatuuka n'asanga abaami ab'omu ggye nga batudde; n'ayogera nti Ndiko kye ntumiddwa gy'oli, ggwe omwami. Yeeku n'abuuza nti Eri ani ku ffe fenna? N'ayogera nti Eri ggwe, omwami. Yeeku n'asituka bombi n'ebayingira mu kisenge; omulenzi Nnabbi n'afuka amafuta ku mutwe gwa Yeeku ng'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri. Era olikuba ennyumba ya Akabu mukama wo mpalane eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bange bannabbi, n'omusaayi gw'abaddu bonna aba Mukama Yezeberi be yatta. Kubanga ennyumba yonna eya Akabu erizikirira: era ndimalawo eri Akabu buli mwana wa bulenzi omuto n'omukulu. Era ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati era ng'ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya. N'embwa ziririira Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri, so tewaliba wa kumuziika. N'aggulawo oluggi n'adduka. Awo Yeeku n'afuluma n'ajja eri abaddu ba mukama we: ne waba amugamba nti Mirembe? Kiki ekireese gy'oli olusajja luno olulalu? N'abagamba nti Omusajja mumumanyi n'ebigambo bye bwe bibadde. Ne bamuddamu nti Olimba; tubuulire nno. N'abaddamu nti Bw'ati ne bw'ati bw'aŋŋambye nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. Amangwago buli omu n'ayambulamu ekyambalo kye ne bakyaliira ku madaala Yeeku alinnyeko. Ne bafuuwa ekkondeere, ne bagamba nti Yeeku ye kabaka. Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi nnakola olukwe okutta Yolaamu. Mu kiseera ekyo Yolaamu n'Abaisiraeri bonna baali bakuuma Lamosugireyaadi kireme kuwambibwa Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli. Kyokka kabaka Yolaamu yali azzeeyo e Yezuleeri amale okussuuka ebiwundu, Abasuuli bye baamufumita ng'alwanyisa Kazayeeri kabaka wa Busuuli. Awo Yeeku n'agamba bakungu banne nti Oba nga muli ku ludda lwange, temukkiriza muntu n'omu kuseguka n'abomba mu kibuga agende mu bubba okumanyisa ab'e Yezuleeri. Awo Yeeku n'atambulira mu ggaali n'agenda e Yezuleeri; kubanga Yolaamu yali alwalidde eyo. Era Akaziya kabaka wa Yuda yali azze okulaba Yolaamu obulwadde. Awo omukuumi yali ayimiridde ku kigo mu Yezuleeri, n'alengera Yeeku ng'ajja ne kibiina kye, n'agamba nti Ndaba ekibiina ky'abantu ekijja. Yolaamu n'amugamba nti Ttumayo omuntu eyeebagadde embalaasi abasisinkane, ababuuze nti Mujja lwa mirembe? Awo omuntu eyeebagadde embalaasi n'agenda okumusisinkana n'amugamba nti Kabaka abuuza nti Ozze lwa Mirembe? Yeeku n'ayogera nti Emirembe ogifaako ki? Dda emabega wange ongoberere. Omukuumi n'abuulira kabaka nti Omubaka atuuse gyebali, naye tadda. Awo n'atuma omubaka ow'okubiri nga yeebagadde embalaasi, n'atuuka gye baali n'amugamba nti Kabaka abuuza nti Ozze lwa mirembe. Yeeku n'addamu nti Emirembe ogifaako ki? Dda emabega wange ongoberere. Omukuumi n'abuulira kabaka nti Omubaka atuuse gyebali, so tadda: era entambula eriŋŋaanga entambula ya Yeeku mutabani wa Nimusi; kubanga atambula ng'awulukuka. Yolaamu n'ayogera nti Muteeketeeke eggaali lyange. Ne bateekateeka eggaali lye. Yolaamu kabaka wa Isiraeri ne Akaziya kabaka wa Yuda ne bafuluma, buli muntu mu ggaali lye, okusisinkana Yeeku, ne bamusanga mu nnimiro eyali eya Nabosi. Awo olwatuuka Yolaamu bwe yalaba Yeeku n'amubuuza nti Ozze lwa mirembe Yeeku? Yeeku n'amuddamu nti Mirembe ki nga okusinza bakatonda abalala n'obulogo bwa nnyoko Yezeberi bikyali bingi obwenkanidde awo? Yolaamu n'akyusa eggaali lye n'adduka nga bw'agamba Akaziya nti, Oo! Akaziya, waliwo olukwe! Yeeku n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna, n'alasa Yolaamu akasaale mu mugongo wakati, ne kamuyita mu mutima, n'agwa mu ggaali lye. Awo Yeeku n'agamba Bidukali omuddu we nti Musitule omusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri: kubanga jjukira, nze naawe bwe twali twebagadde embalaasi nga ffembi tugoberera Akabu kitaawe, Mukama bwe yayogera ebigambo bino ebikolimira Akabu nti: nti Mazima nnalabye jjo omusaayi gwa Nabosi n'omusaayi gw'abaana be, bw'ayogera Mukama; era ndikusasulira mu nnimiro eno, bw'ayogera Mukama. Kale nno musitule omusuule mu nnimiro ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama. Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebiguddewo, n'addukira mu ggaali lye, ng'akutte ekkubo erigenda e Besikagaani. Yeeku n'amuwondera, era n'agamba basajja be nti N'oyo mumuttire mu ggaali lye. N'addukira e Megiddo n'afiira eyo Abaddu be ne bamusitulira gaali lye ne bamutwala e Yerusaalemi, ne bamuziikira mu ntaana ye wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu Akaziya n'atandika okufuga Yuda. Awo Yeeku bwe yatuuka e Yezuleeri, Yezeberi n'akiwulira, n'aziga amaaso ge n'alongoosa enviiri ze n'atunulirira mu ddirisa. Yeeku bwe yali ng'ayingira mu mulyango, Yezeberi n'amukoowoola nti Ggwe Zimuli, eyatta mukama wo, ozze lwa mirembe? Yeeku n'ayimusa amaaso n'atunula waggulu awali eddirisa, n'agamba nti Ani ali ku ludda lwange, ani? Abalaawe basatu oba babiri ne balingiza gy'ali. Yeeku n'abagamba nti Mumusuule wansi! Ne bamusuula wansi, omusaayi gwe ne gumansukira ku kisenge ne ku mbalaasi. Yeeku n'amulinnyirira n'eggaali lye. Awo Yeeku bwe yayingira mu lubiri, n'alya n'anywa, n'agamba nti Mulabe nti muziika omukazi oyo eyakolimirwa, kubanga muwala wa kabaka. Ne bagenda okumuziika: naye ne batasangawo ku ye wabula ekiwanga n'ebigere n'ebibatu by'emikono gye. Kyebaava bakomawo ne bamubuulira. Naye n'ayogera nti Kino kye kigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng'ayogera nti Embwa ziririira omubiri gwa Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri: n'omulambo gwa Yezeberi guliba ng'obusa ku ttale mu nnimiro ye Yezuleeri, n'okwogera ne wabulawo ayogera nti Ono ye Yezeberi. Awo Akabu yalina abantu nsanvu (70) abasibuka mu ye mu Samaliya. Yeeku n'awandiika ebbaluwa, n'aziweereza e Samaliya eri abakulu ba Yezuleeri, Abakadde, n'abo abaleeranga abantu abava mu nnyumba ya Akabu ng'agamba nti Ebbaluwa eno ng'ebatuusseeko nga bwe mulina abantu ba Mukama wammwe, era mulina amagaali n'embalaasi, mulina n'ekibuga ekiriko enkomera n'eby'okulwanyisa; kale mulonde ku bantu ba mukama wammwe asinga obulungi n'okusaana, mumuteeke ku ntebe ya mukama wammwe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe. Bwe baasoma ebbaluwa eyo, ne batya nnyo, ne bagamba nti Bakabaka abo ababiri Yekolaamu ne Akaziya we batasobolera kumulwanyisa ffe tunasobola tutya? Awo omukulu w'abo mu nnyumba n'omukulu w'ekibuga, era n'abakadde n'abo abaalera abantu b'omunnyumba ya Akabu ne baatumira Yeeku nga boogera nti Tuli baddu bo, era tunaakola byonna by'onootulagira: tetujja kufuula muntu yenna kabaka: kola kyonna ggwe ky'onoosiima. Awo Yeeku n'abawandiikira ebbaluwa endala ng'ayogera nti Oba nga muli ku lwange ne mukkiriza okuwulira eddoboozi lyange, mutemeko emitwe gyabo mu nnyumba ya mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri enkya obudde nga buno. Awo abantu b'omu nnyumba ya kabaka nsanvu (70) baali n'abakulu b'ekibuga abaabalera. Awo ebbaluwa bwe yatuuka gye baali, ne batwala abantu abo ensavu (70) ab'omu nnyumba ya kabaka ne babatta, ne babatemako emitwe ne bagiteeka mu bisero ne bagiweereza e Yezuleeri. Omubaka n'ajja n'abuulira Yekku nti Baleese emitwe gya batabani ba kabaka. Yeeku n'alagira nti Mugituume entuumo bbiri awayingirirwa mu wankaaki okutuusa enkya. Awo olwatuuka enkeera Yeeku n'afuluma n'ayimirira ku wankaaki we kibuga, n'agamba abantu bonna nti Mmwe temuliiko musango: nze nnakola olukwe nnenzitta mukama wange Yolaamu: naye ani yasse bano bonna? Mutegeere nno nga buli kimu Mukama kye yayogera ku b'ennyumba ya Akabu, tekirirema kutuukirira. Mukama akoze ekyo kye yayogera ng'ayita mu muddu we Eriya. Bw'atyo Yeeku n'atta n'abo abaasigala ku nnyumba ya Akabu mu Yezuleeri: abakungu be bonna, mikwano gye ennyo ne bakabona be okutuusa lwe yabamalirawo ddala bonna. Awo Yeeku n'ava e Yezuleeri n'agenda e Samaliya. Bwe yali ng'ali mu kkubo ku nnyumba ey'abasumba esaalirwamu ebyoya by'endiga, n'asanga baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda, n'ababuuza nti Mmwe muli b'ani? Ne bamuddamu nti Tuli baganda ba Akaziya: era tuserengeta okulamusa abaana ba kabaka n'abaana ba nnamasole Yezeberi. Yeeku n'alagira nti Mubakwate nga balamu. Ne babakwata nga balamu, ne babattira ku bunnya obw'ennyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga, abasajja ana mu babiri (42 ), teyalekawo n'omu ku bo. Yeeku bwe yava awo, n'asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng'ajja okumusisinkana. Yeeku n'amulamusa n'amugamba nti Ggwe nange tuli ba ndowooza emu? Yekonadabu n'addamu nti Ddala bwe kiri. Yeeku n'agamba nti Oba bwe kiri, kale nkwata mu mukono. Yekonadabu n'amusika mu mukono. Yeeku n'amulinnyisa mu ggaali lye. N'ayogera nti Jjangu tugende ffembi olabe bwemaliridde okutuukiriza ekigambo kya Mukama. Awo ne bagenda bonna mu ggaali lye. Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya n'atta bonna ab'omu nnyumba ya Akabu abali basigaddewo nga ekigambo kya Mukama bwe kyali kyeyayogerera mu muddu we Eriya. Awo Yeeku n'akuŋŋaanya abantu bonna n'abagamba nti Akabu yasinzanga Baali katono; naye nze nja kumusinza nnyo. Kale nno mumpitire bannabbi bonna aba Baali, abamusinza bonna ne bakabona be bonna; waleme okubulawo n'omu: kubanga nnina ssaddaaka enkulu gye ŋŋenda okuwaayo eri Baali; buli anaabulawo wakuttibwa. Naye Yeeku yakola bw'atyo ng'asala lukwe alyoke azikirize abaasinza Baali. Awo Yeeku n'alagira nti Mulangirire olunaku olw'okusinzizako Baali. Ne balulangirira. Awo Yeeku n'atumya mu Isiraeri yonna, abasinza Baali: ne bajja ne bayingira mu ssabo lya Baali lyonna ne lijjula. Awo Yeeku n'alagira omukulu w'etterekero ly'ebyambalo nti Bonna abasinza Baali baggyireyo ebyambalo. N'abiggyayo. Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bayingira mu ssabo lya Baali, Yeeku n'agamba abasinza Baali nti Mwetegereze mulabe nga tewali n'omu mu mmwe wano asinza Mukama, wabula abasinza Baali bokka. Awo Yeeku ne Yekonadabu ne bayingira mu ssabo okuwaayo ssaddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali. Era Yeeku yali ataddewo abasajja kinaana (80) ebweru we ssabo nga abalagidde okutta buli mugoberezi wa Baali yenna, nga buli analeka n'omu kubo okutoloka ye yennyini yali wakuttibwa. Bwe bamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeeku n'agamba abakuumi n'abakungu nti Muyingire, mubatte, waleme kubaawo n'omu atoloka. Ne basowola ebitala ne babatta, emirambo ne bagisuula ebweru. Olwo abakuumi n'abakungu ne bayingira munda ddala mu ssabo lya Baali. Awo ne baggya ebifaananyi bya Baali ebyalimu ne ba byokya. Ne bamenyamenya ekifaananyi kya Baali ne ssabo lye ne baalifuula ekiyigo ne leero. Bw'atyo Yeeku bwe yazikiriza Baali okumumalawo mu Isiraeri. Wabula naye yakola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ebyaleetera Isiraeri ekibi eky'okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri n'e mu Ddaani. Mukama n'agamba Yeeku nti Nga bw'okoze obulungi bye nsiima, n'otuukirizza ku b'ennyumba ya Akabu byonna bye n'ayagala bakolebweko, ab'ezzadde lyo okutuusa ku bannakana balituula ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri. Naye Yeeku n'atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isiraeri n'omutima gwe gwonna; teyava mu bibi bya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri. Mu biro ebyo Mukama n'atandika okukendeeza Isiraeri: Kazayeeri kabaka w'Abasuuli n'awangula ebitundu bya Isiraeri byonna eby'okunsalo; okuva ku Yoludaani ebuvanjuba, ensi yonna ey'e Gireyaadi, Abagaadi n'Abalewubeeni n'Abamanase, okuva ku Aloweri ekiriraanye ekiwonvu kya Alunoni, Gireyaadi ne Basani. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yeeku ne byonna bye yakola, n'amaanyi ge gonna byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Yeeku ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu Samaliya. Yekoyakaazi mutabani we n'afuga mu kifo kye. Era ebiro Yeeku bye yafugira Isiraeri mu Samaliya byali emyaka abiri mu munaana (28). Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n'asituka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka. Naye Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'omulezi we n'amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, n'amubba n'amukweka mu kisenge ekisuulwamu mu Yeekaalu; Asaliya aleme okumutta. Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya nga yafuga ensi. Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada n'atumya abaami b'ebikumi ab'oku Bakali n'abambowa, n'abaleeta gy'ali mu nnyumba ya Mukama; n'alagaana nabo endagaano n'abalayiza ekirayiro mu nnyumba ya Mukama, n'abalaga omwana wa kabaka, n'abalagira nti Kino kye muba mukola: bwe munajja okukuuma mu mpalo zammwe ku Ssabbiiti, ekimu eky'okusatu ku mmwe banaakuma olubiri lwa kabaka, n'ekimu eky'okusatu, banaaba ku mulyango Suuli: era n'ekimu eky'okusatu banaaba ku mulyango oguli emabega w'ekifo ky'abakuumi. Bwe mutyo bwe munaakuuma olubiri lwa kabaka, mube olukomera. Ab'ebibinja ebibiri abamazeeko empalo zaabwe ku Ssabbiiti, banaakuuma Yeekaalu nga beetoolodde kabaka. Era muneetooloola kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte eby'okulwanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingira mu nnyiriri attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga. Abaami b'ebikumi ne bakola nga byonna bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku Ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku Ssabbiiti, ne bajja eri Yekoyaada kabona. Awo kabona n'awa abaami b'ebikumi amafumu n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Mukama. Awo abambowa ne bayimirira, buli muntu ng'akutte eby'okulwanyisa bye, okuva ku luuyi olwa Yeekaalu olwa ddyo okutuuka ku luuyi olwa Yeekaalu olwa kkono, okuliraana ekyoto ne Yeekaalu omwali kabaka enjuyi zonna. Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikkira engule ey'obwakabaka n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu amateeka; ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka; ne bakuba mu ngalo ne boogera nti Kabaka, abe mulamu. Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abambowa n'olw'abantu n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama: n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ng'engeri bwe yabanga, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi ne basanyuka ne bafuuwa amakkondeere. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogerera waggulu nti Mundiddemu olukwe! Mundiddemu olukwe! Yekoyaada kabona teyayagala Asaliya kuttirwa mu bitundu bya Yeekaalu, kyeyava alagira abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi nti: Mumufulumye nga mumuyisa mu nnyiriri z'abaserikale. Buli anaamugoberera ng'agezaako okumutaasa, mumutte. Awo ne bamukwata, ne bamuyisa mu mulyango embalaasi we ziyingirira mu lubiri lwa kabaka: ne bamuttira eyo. Yekoyaada kabona n'akkirizisa kabaka n'abantu, okukola endagaano ne Mukama, ekakasa nti banaabanga bantu ba Mukama, era n'endagaano ekakasa nti wanaabangawo enkolagana ennungi wakati wa kabaka n'abantu. Awo abantu bonna ab'omu nsi ne bagenda mu ssabo lya Baali, ne balimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto. Awo Yekoyaada kabona n'assaawo abaami ab'oku nnyumba ya Mukama. N'atwala abaami b'ebikumi n'Abakali n'abambowa n'abantu bonna ab'omu nsi omwo; ne baserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama, ne bamufulumya, ne bamuyisa mu kkubo ery'omu mulyango gw'abambowa okumutwala mu lubiri lwa kabaka. Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera nga Asaliya amazze okuttibwa: Asaliya yattibwa n'ekitala okumpi n'olubiri lwa kabaka. Yowaasi yali aweza emyaka musanvu bwe yatandika okufuga. Mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Yeeku kabaka wa Isiraeri, Yowaasi n'atandika okufuga; n'afugira emyaka ana (40) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba. Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku ze zonna Yekoyaada kabona ze yamuyigirizaamu. Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu beeyongera okuwaayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo. Awo Yowaasi n'agamba bakabona nti Effeeza zonna ez'ebintu ebitukuzibwa ebireetebwa mu nnyumba ya Mukama, ne feeza buli muntu z'agerekerwa okuwa, wamu n'ezo omuntu z'aba yeetemye yekka okuwa, zikwasibwenga bakabona, buli kabona ng'akwasibwa ez'abo b'akolamu, bazikozese okuddaabiriza Yeekaalu buli w'eba yeetaaga okudaabirizibwa. Naye okutuusa mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Yowaasi kabaka, bakabona bali tebanaddabiriza nnyumba ya Mukama. Awo kabaka Yowaasi n'ayita Yekoyaada kabona ne bakabona abalala n'ababuuza nti Kiki ekibalobera okuddabiriza ennyumba ya Mukama? Naye okuva kati temwongera kuggya feeza ku bantu ne muzisigaza, naye muziweeyo zikozesebwe okuddaabiriza ennyumba ya Mukama. Awo bakabona ne bakkiriza obutaggya nate ffeeza ku bantu newakubadde okuziba ebituli by'ennyumba. Naye Yekoyaada kabona n'addira essanduuko ennene n'awummula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n'agiteeka ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng'oyingira mu nnyumba ya Mukama: awo bakabona abaakuumanga oluggi ne bateeka omwo effeeza zonna ezaaleetebwanga mu nnyumba ya Mukama. Awo olwatuuka bwe baalaba nga mu ssanduuko mulimu feeza nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajja ne bazibala ze basanze mu nnyumba ya Mukama ne bazitereka mu bisawo. Effeeza ezo ezibaliddwa, ne bazikwasa abalabirira ennyumba ya Mukama: ne basasula ababazzi n'abazimbi abaakola emirimu gy'ennyumba ya Mukama, n'abazimbi b'amayinja n'abatema amayinja, n'okugula emiti n'amayinja amabajje okuddabiriza ennyumba ya Mukama; ne basasulira n'ebirala byonna ebyetaagisa ku mulimu ogwo. Naye ebikopo ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebbakuli, n'amakondeere, n'ebintu ebirala byonna ebya zaabu oba ebya ffeeza ebikozesebwa mu nnyumba ya Mukama, tebyakolebwako n'effeeza ezo ezaaleetebwa mu nnyumba ya Mukama: naye zonna ezaaleetebwa, zaakozesebwa kusasula bakozi n'akugula byonna, ebyakozesebwa okuddabiriza ennyumba ya Mukama. Era abantu be baakwasanga feeza okusasula abakozi tebaabasabanga kunnyonnyola ngeri gye bazikozesezzamu, kubanga abantu abo baazikozesanga na bwesigwa. Effeeza ez'ebiweebwayo olw'omusango n'effeeza ez'ebiweebwayo olw'okwonoona tezaaleetebwa mu nnyumba ya Mukama: zaabanga za bakabona. Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajja n'alumba ekibuga Gaasi n'akiwangula: n'akyukira ne Yerusaalemi okukirwanyisa. Yekoyaasi kabaka wa Yuda n'addira ebintu byonna Yekosafaati ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda bye baawongera Mukama, era n'ebyo ye yennyini Yowaasi bye yali awonze, n'ezaabu yenna eyasangibwa mu ggwanika lye nnyumba ya Mukama, era ne mu ly'olubiri lwa kabaka, n'abiweereza Kazayeeri kabaka w'e Busuuli, Kazayeeri n'alekayo okulumba Yerusaalemi, n'agenda. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Abaddu be ne bakola olukwe, ne bamuttira mu nnyumba ey'omu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Miiro, ku kkubo erigenda e Siira. Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, abaddu be baamufumita n'afa; Yowaasi n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'abiri mu esatu (23) ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya n'afugira emyaka kkumi na musanvu (17). N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ebyaleetera Isiraeri okwonoona; n'atabivaamu. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Isiraeri, n'abagabula mu mukono gwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ennaku zonna. Awo Yekoyakaazi n'eyegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira: kubanga yalaba okujoogebwa kwa Isiraeri kabaka w'e Busuuli bwe yabajooga. Mukama n'awa Abaisiraeri omununuzi, ne baggyibwa mu bufuzi bw'Abasuuli. Abaisiraeri ne babeera mu ddembe nga bwe baabanga edda. Naye ne batava mu bibi by'ennyumba ya Yerobowaamu ebyaleetera Isiraeri okwonoona, naye ne batambulira omwo: ne Asera n'asigala mu Samaliya nga asinzibwa. Yekoyakaazi n'atasigazaawo ggye okuggyako abasajja ataano (50) abeebagala embalaasi, amagaali kkumi (10), n'abasserikale omutwalo gumu (10,000) abatambula ku bigere, kubanga kabaka w'e Busuuli yali azikiriza abalala bonna, n'abalinnyirira ng'enfuufu ey'omu gguuliro. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakaazi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Yekoyakaazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika mu Samaliya: Yekoyaasi mutabani we n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'asatu mu musanvu (37) ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16). Yekoyaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola naleteera Isiraeri okwonoona: naye n'atambulira omwo. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge ge yalwanyisa ne Amaziya kabaka wa Yuda byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Yekoyaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya wamu ne bassekabaka ba Isiraeri; Yerobowaamu mutabani we n'atuula ku ntebe ye. Awo Erisa n'alwala obulwadde obwamuviirako okufa. Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'agenda gy'ali okumulaba. N'amugamba nga bw'akaaba n'amaziga nti Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Isiraeri! Erisa n'agamba Yekoyaasi nti Kwata omutego n'obusaale: Yekoyaasi n'akwata omutego n'obusaale. Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Teeka omukono gwo ku mutego: n'aguteekako. Erisa n'ateeka emikono gye ku mikono gya kabaka. Erisa n'agamba kabaka nti Ggulawo eddirisa ery'ebuvanjuba: n'aliggulawo. Erisa n'agamba nti Ako ke kasaale akanawangula Obusuuli: Olirwanyisa Abasuuli mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo. Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Kwata obusaale: kabaka wa Isiraeri n'abukwata. Erisa n'amugamba nti Kuba ku ttaka. Kabaka n'akuba ku ttaka emirundi esatu, n'alekera awo. Omusajja wa Katonda n'amusunguwalira n'ayogera nti Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga; kale wandikubye Obusuuli okutuusa lwe wandibuzikirizza: naye kaakano olikuba Obusuuli emirundi esatu gyokka. Awo Erisa n'afa ne bamuziika. Era ebibiina by'Abamowaabu ne bazindanga ensi omwaka nga gutandika. Lwali lumu abamu ku Baisiraeri bwe baali nga baliko omusajja gwe baziika, ne balaba ekimu ku bibinja ebyo nga kijja. Ne basuula omulambo mu ntaana ya Erisa. Omulambo gw'omusajja olwakoona ku magumba ga Erisa, omusajja n'alamuka n'ayimirira ku magulu ge. Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajoogera Isiraeri emirembe gyonna egya Yekoyakaazi. Naye Mukama n'abakwatirwa ekisa n'abasaasira n'assaayo omwoyo eri bo, olw'endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu biro ebyo. Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'afa; Benikadadi mutabani we n'afuga mu kifo kye. Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukono gwa Yekoyakaazi kitaawe ng'alwana. Yekoyaasi n'amukuba emirundi esatu, n'akomyawo ebibuga bya Isiraeri. Mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri, Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'atandika okufuga. Yali awezza emyaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga; n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi: ne nnyina nga ye Yekoyadiini ow'e Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, naye n'atenkana Dawudi jjajjaawe: yakola ng'ebyo byonna Yowaasi kitaawe bye yakolanga. Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo. Awo olwatuuka Amaziya nga kyajje amale okwenyweza ku bwakabaka, n'alyoka atta abaddu be abatta Yowaasi kitaawe: naye abaana b'abassi teyabatta: nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa: nga Mukama bwe yalagira ng'ayogera nti Bakitaabwe tebattibwanga ku lw'abaana, so n'abaana tebattibwanga ku lwa bakitaabwe; naye buli muntu anaafanga olw'okwonoona kwe ye. Amaziya n'attira mu Kiwonvu eky'Omunnyo abasserikale Abaedomu omutwalo gumu (10,000), n'awamba ekibuga Seera mu lutalo, n'akituuma erinnya Yokuseeri, lye kikyayitibwa ne leero. Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi muzzukulu wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Jjangu twambalagane. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Muwala wo muwe mutabani wange amuwase: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango ogwo. Kituufu owangudde Edomu, ekyo ne kikuleetera okwegulumiza. Kale beera ewuwo okyenyumiririzeemu. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Yuda? Naye Amaziya n'agaana okuwulira. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'alumba Amaziya kabaka wa Yuda ne bambalaganira e Besusemesi ekya Yuda. Isiraeri n'awangula Yuda na buli muserikale wa Yuda n'adduka n'addayo ewuwe. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira e Besusemesi Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya. Yekoyaasi n'agenda e Yerusaalemi n'amenyamenya bbugwe wakyo, okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, bwe buwanvu bwe mikono bina (400). N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n'ebintu byonna bye yasanga mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'awamba n'abantu, n'addayo e Samaliya. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi bye yakola n'amaanyi ge era bwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Yekoyaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samaliya awali bassekabaka ba Isiraeri; Yerobowaamu n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'awangaala emyaka kkumi n'etaano (15) Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okufa. Ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Ne wabaawo abaakola olukwe mu Yerusaalemi okutta Amaziya, Amaziya n'addukira mu kibuga ky'e Lakisi. Naye ne baweereza abantu okumulondoola e Lakisi, ne bamuttirayo Omulambo gwe ne bagukomezaawo ku mbalaasi: Ne baguziika wamu ne bajjajjaabe mu Yerusaleemi mu kibuga kya Dawudi. Awo abantu bonna aba Yuda ne batwala Azaliya eyali awezzezza emyaka kkumi na mukaaga (16), ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya. Azaliya n'azza ekibuga Erasi eri Yuda, n'akizimba buggya, nga kitaawe amaze okufa. Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano (15) ogwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda Yerobowaamu mutabani wa Yekoyaasi ssekabaka wa Isiraeri n'atandika okufuga mu Samaliya, n'afugira emyaka ana mu gumu (41). N'akola ebibi mu maaso ga Mukama: nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola ebyaleetera Isiraeri okwonoona. Yazzaayo ensalo ya Isiraeri okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku nnyanja eya Alaba, ng'ekigambo kya Mukama Katonda wa Isiraeri bwe kyali kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow'e Gasukeferi. Mukama n'alaba okubonyaabonyezebwa kwa Isiraeri, nga kunene nnyo: nga tewali n'omu wakubayamba wadde omuddu oba ow'eddembe. Kyokka Mukama yali tayagala kusaanyaawo Baisiraeri ku nsi. Kale n'abawonya ng'ayita mu Yerobowaamu mutabani wa Yekoyakaasi. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu ne byonna bye yakola n'obuzira bwe yalwana nakomezaawo Isiraeri ebibuga Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, ba bassekabaka ba Isiraeri; Zekkaliya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'abiri mu omusanvu (27) ogwa Yerobowaamu Owokubiri kabaka wa Isiraeri Azaliya mutabani wa Amaziya kabaka wa Yuda n'atandika okufuga. Yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga (16) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ataano mu ebiri (52) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Amaziya bye yakolanga. Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebyo. Awo Mukama n'alwaza kabaka ebigenge, n'agengewala okutuusa ku lunaku kwe yafiira, olw'ebigenge n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka. Mutabani we Yosamu n'abeera mu lubiri nga yalamula. Ebikolwa ebirala byonna ebya Azaliya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Azaliya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; era ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yosamu mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'asatu mu omunaana (38) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu ow'okubiri n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyezi mukaaga. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga bajjajjaabe bwe baakolanga: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ebyaleetera Isiraeri okwonoona. Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'amukolera olukwe, n'amufumitira mu maaso g'abantu n'amutta, n'afuga mu kifo kye. Ebikolwa ebirala byonna ebya Zekkaliya byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku nti Ab'ezzadde lyo balibeera bakabaka mu Isiraeri okutuuka ku mulembe ogwokuna, bwe kityo ne kituukirira. Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'atandika okufuga mu mwaka ogw'asatu mu omwenda (39) ogwa Uzziya kabaka wa Yuda; n'afugira ebbanga lya mwezi gumu mu Samaliya. Awo Menakemu mutabani wa Gaadi n'ava e Tiruza n'ajja e Samaliya, n'afumita Sallumu mutabani wa Yabesi n'amutta, n'afuga mu kifo kye. Ebikolwa ebirala byonna ebya Sallumu n'olukwe lwe yakola okutta Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Awo Menakemu n'azikiriza ekibuga Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ebitundu ebikiriraanye okuviira ddala e Tiruza, kubanga tebaamuggulirawo. N'abakazi bonna abaali embuto abaakirimu n'ababaaga! Mu mwaka ogw'asatu mu omwenda (39) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n'atandika okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka kkumi mu Samaliya. N'akola ebibi mu maaso ga Mukama ennaku ze zonna: nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakola n'aleetera Isiraeri okwonoona. Puli kabaka w'e Bwasuli n'alumba ensi ya Isiraeri okugirwanyisa; Menakemu n'awa Puli talanta za ffeeza lukumi (1,000), amuyambe okumunywereza mu bwakabaka. Menakemu n'asolooza effeeza mu Isiraeri okuva ku basajja bonna abagagga, ku buli musajja ffeeza sekeri ataano (50), n'aziwa Puli kabaka w'e Bwasuli. Ebikolwa ebirala byonna ebya Menakemu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Menakemu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Pekakiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'ataano (50) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afuga emyaka ebiri. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi: nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola ebyaleetera Isiraeri okwonoona. Awo Peka mutabani wa Lemaliya, omuduumizi w'eggye lye nnakola olukwe n'abasajja ataano (50) abaava e Gireyaadi, n'amufumitira e Samaliya mu kigo ekigumu eky'okwekwekamu eky'omunda mu lubiri n'amutta wamu ne Alugobu ne Aliye. Peka n'afuga mu kifo kye. Ebikolwa ebirala byonna ebya Pekakiya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Mu mwaka ogw'ataano mu ebiri (52) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Lemaliya n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka abiri (20). N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola ebyaleetera Isiraeri okwonoona. Ku mirembe gya Peka kabaka wa Isiraeri, Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'awamba ebibuga Iyoni ne Aberubesumaaka, Yanowa, Kedesi ne Kazoli; n'ebitundu Gireyaadi, Ggaliraaya ne Nafutaali; n'atwala abantu nga basibe e Bwasuli. Mu mwaka ogwa abiri (20) ogwa Yosamu mutabani wa Uzziya kabaka wa Yuda; Koseya mutabani wa Era nnakolera Peka mutabani wa Lemaliya olukwe, n'amufumita n'amutta, ye n'afuga mu kifo kye. Ebikolwa ebirala byonna Peka byeyakola, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri. Mu mwaka ogwokubiri ogwa Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri, Yosamu mutabani wa Uzziya kabaka wa Yuda n'atandika okufuga. Yali awezzeza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadoki. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: nga kitaawe Uzziya bwe yakola. Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu ne beeyongera okuweerayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo. Yosamu n'azimba omulyango ogw'engulu ogw'omu nnyumba ya Mukama. Ebikolwa ebirala byonna, Yosamu byeyakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Mu biro ebyo Mukama mwe yatandikira okusindika Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya okulwana ne Yuda. Awo Yosamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: Akazi mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu (17) ogwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda n'atandika okufuga. Akazi yali awezzeza emyaka abiri (20) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. N'atakola birungi mu maaso ga Mukama Katonda we nga jjajjaawe Dawudi bweyakola. Naye n'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ebbi, n'ayokya mutabani we mu muliro nga ssaddaaka ng'eby'emizizo bwe byali eby'ab'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. N'awangayo ssaddaaka n'ayoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi. Awo Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri ne balumba Yerusaalemi okukirwanyisa: ne bazingiza Akazi, naye ne batasobola kumuwangula. Mu kiseera ekyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yawangulira Erasi, ne kiba kya Busuuli, n'akigobamu aba Yuda abaakirimu, Abasuuli ne babeera mu Erasi n'okutuusa kati. Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo: jjangu ontaase mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abannumbye. Awo Akazi n'aggyayo ezaabu n'effeeza eyasangibwa mu nnyumba ya Mukama, ne by'obugagga ebyali mu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza kabaka w'e Bwasuli ng'ekirabo. Awo kabaka w'e Bwasuli n'akkiriza: n'alumba Ddamasiko n'akiwamba, n'atta kabaka wa Lezini, n'atwala abantu bamu e Kiri nga basibe. Awo kabaka Akazi n'agenda e Ddamasiko okusisinkana ne Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli, n'alabayo ekyoto: kabaka Akazi n'aweereza Uliya ekifaananyi ky'ekyoto ekyo ekiraga engeri yonna gyekyakolebwamu. Uliya kabona n'azimba ekyoto ng'agoberera byonna bwe byali kabaka Akazi bye yaweereza ng'ayima e Ddamasiko. Bw'atyo bwe yakikola, n'akimaliriza nga kabaka Akazi tannakomawo okuva e Ddamasiko. Awo kabaka bwe yakomawo okuva e Ddamasiko, n'alaba ekyoto ekyo, n'akisemberera, n'aweerayo ku kyo ssaddaaka. N'ayokerako ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'ayiwako ekiweebwayo eky'eby'okunywa, n'amansirako n'omusaayi ogw'ekiweebwayo eky'emirembe. Ekyoto eky'ekikomo ekya Mukama ekyali wakati we kyoto kya Akazi kyeyazimbisa ne nnyumba ya Mukama, n'akiggyawo n'akiteeka ku luuyi olw'obukiikakkono obw'ekyoto kye. Awo kabaka Akazi n'alagira Uliya kabona nti Ku kyoto kino ekyange ekinene kw'obanga oyokera ekiweebwayo eky'obutta ekya buli kawungeezi n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'obutta ebya kabaka n'eby'abantu bonna mu ggwanga, n'ebiweebwayo byabwe eby'okunywa; era omansirangako omusaayi gw'ensolo zonna eziwereddwayo nga ssaddaaka. Naye ekyoto eky'ekikomo kinaabanga kyange kya kwebuulizaako eri Mukama. Bw'atyo Uliya kabona n'akola nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yamulagira. Awo kabaka Akazi n'asalako emigo ku bikondo ebyali bikozesebwa mu nnyumba ya Mukama, n'aggyako ebbenseni ezaali ku byo ne ttanka ey'ekikomo eyali etudde ku bifaananyi by'ente ekkumi ne bbiri (12) ez'ekikomo, n'agiteeka wansi ku mayinja amaaliire. Olukuubo olusereke olw'okuyitamu ku Ssabbiiti olwali luzimbiddwa munda w'olubiri, n'omulyango kabaka gwe yayingirirangamu mu nnyumba ya Mukama, n'abiziba okusanyusa kabaka wa Bwasuli. Ebikolwa ebirala byonna ebya Akazi bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Keezeekiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) ogwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka mwenda. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, naye n'atenkana bassekabaka ba Isiraeri abaamusooka. Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'alumba Koseya n'amulwanyisa n'amuwangula; Koseya n'afuuka muddu we n'amuwanga omusolo buli mwaka. Naye Kabaka oyo wa Bwasuli, n'amanya olukwe lwa Koseya olw'okujeema, nga Koseya atumidde So, kabaka wa Misiri ababaka amuyambe, bw'atyo Koseya n'atawa kabaka w'e Bwasuli musolo nga bwe yakolanga buli mwaka. Awo kabaka wa Bwasuli n'akwata Koseya n'amusiba mu kkomera. Awo kabaka w'e Bwasuli n'alumba ensi ya Isiraeri okugirwanyisa, najja e Samaliya n'akizingiriza emyaka esatu. Mu mwaka ogw'omwenda nga Koseya ye kabaka wa Isiraeri, kabaka wa Bwasuli n'awamba ekibuga Samaliya, n'atwala ab'omu Isiraeri mu Bwasuli nga basibe, abamu n'abateeka mu kibuga Kala, abalala mu kitundu ky'e Gozani okumpi n'omugga Kaboli ne mu bibuga by'Abameedi. Ekyo kyali bwe kityo kubanga abaana ba Isiraeri baali boonoonye Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mu mukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, ne baaweerezanga bakatonda abalala; era ne batambuliranga mu mpisa z'amawanga ago, Mukama ge yagoba mu maaso gabwe ne mu mateeka ga ba ssekabaka ba Isiraeri ge baateekanga. Era abaana ba Isiraeri ne bakoleranga mukyama ebigambo ebitali birungi ku Mukama Katonda waabwe; ne beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, mu kigo eky'omukuumi era ne mu bibuga ebiriko bbugwe. Era ne beesimbira empagi ez'amayinja n'ebifaananyi bya Asera, katonda omukazi ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi: ne bootererezanga obubaane ku bifo ebyo ebigulumivu ng'amawanga Mukama ge yasooka okuggyawo, bwe gakolanga ebibi ne gasunguwaza Mukama: ne basinzanga ebifaananyi Mukama bye yagamba nti Temubisinzanga. Naye Mukama n'alabulanga Isiraeri ne Yuda ng'ayita mu bannabbi na buli mulabi ng'agamba nti Mukyuke muve mu makubo gammwe amabi mukwatenga ebiragiro byange n'amateeka gange ng'amateeka gonna bwe gali ge nnalagira bajjajjammwe, era ge n'abawa nga mpita mu baddu bange bannabbi. Kyokka ne batawulira, wabula ne bakakanyaza emitima gyabwe nga bajjajjaabwe abaagaana okwesiga Mukama Katonda waabwe, bwe baakola. Ne bagaana okukwata amateeka ge, n'okukuuma endagaano gye yakola ne bajjajjaabwe, ne batafa ku kulabula kwe yabalabulamu. Ne basinza ebitagasa, nabo ne bafuuka ebitagasa, ne bagoberera empisa z'ab'amawanga agabeetoolodde, sso nga Mukama yabagaana okuyisa ng'ab'amawanga ago. Awo ne baleka ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ennyana bbiri, ne bakola Asera, ne basinzanga emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, ne baweerezanga Baali. Ne bokyanga abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala mu muliro nga ssaddaaka; ne balagulwanga era ne bakolanga eby'obulogo, ne beeweerangayo ddala okukola ebibi, ne banyiiza Mukama. Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isiraeri n'abagoba mu maaso ge: tewaali gwe yalekawo okuggyako ekika kya Yuda kyokka. Naye ne Yuda ne batakwatanga biragiro bya Mukama Katonda waabwe, ne batambuliranga mu mateeka ga Isiraeri ge baateeka. Mukama n'agaana ezzadde lyonna erya Isiraeri n'ababonyaabonyanga n'abagabula mu mukono gw'abanyazi okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge. Kubanga yayuzaamu Isiraeri okubaggya ku nnyumba ya Dawudi; ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka. Yerobowaamu n'ajeemesa Isiraeri, n'abaleetera okwonoona okunene. Awo abaana ba Isiraeri ne batambuliranga mu bibi byonna ebya Yerobowaamu bye yakola; ne batabivaamu; okutuusa Mukama lwe yagoba Isiraeri mu maaso ge nga bwe yayogerera mu baddu be bannabbi. Awo Isiraeri ne baggyibwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu Bwasuli n'okutuusa leero. Awo kabaka w'e Bwasuli n'aleeta abantu ng'abaggya e Babbulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n'abateeka mu bibuga eby'e Samaliya mu kifo ky'abaana ba Isiraeri: ne babeera mu Samaliya ne batuula mu bibuga byabyo. Bwe baali baakatandika okubeeramu, tebassaamu Mukama kitiibwa, Mukama kyeyava abasindikira empologoma ne zibattamu abamu. Kyebaava bagamba kabaka w'e Bwasuli nga boogera nti Amawanga ge watwalira ddala n'obateeka mu bibuga eby'e Samaliya tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi: kyeyava abasindikira empologoma ne zibatta kubanga bali tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi eyo. Awo kabaka w'e Bwasuli n'alagira ng'ayogera nti Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo, bagende babeere eyo, abayigirize empisa ya Katonda ow'omu nsi eyo. Awo omu ku bakabona be baggya mu Samaliya n'ajja n'abeera e Beseri n'abayigiriza bwe kibagwanira okutyanga Mukama. Naye buli ggwanga ne beekoleranga bakatonda baabwe bo ne babateeka mu nnyumba ez'ebifo ebigulumivu Abasamaliya bye baali bakoze, buli ggwanga mu bibuga byabwe mwe baabeera. Abantu abava mu mawanga ne beekolera bakatonda baabwe: abava e Babbulooni ne beekolera Sukkosubenosi, abava e Kuusi ne beekolera Nerugali, abava e Kamasi ne beekolera Asima. Abava mu Avi ne beekolera Nibukazi ne Talutaki; Abasefavayimu ne bookeranga abaana baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda babwe. Abantu bano, ne Mukama baamusinzanga, era ne beerondangamu mu bo bennyini bakabona abaabaweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu. Bwe batyo ne bassangamu Mukama ekitiibwa, naye era ne babanga baweereza ba katonda babwe, nga bagoberera obulombolombo bw'ensi mwe baava. Ne leero bakyakola nga bwe baakolanga edda. Tebassaamu Mukama kitiibwa era tebakwata byabalagirwa n'ebyabakuutirwa, wadde okugondera amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa ab'ezzadde lya Yakobo gwe yatuuma Isiraeri. Mukama gwe yalagaana naye endagaano n'abakuutira ng'ayogera nti Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga, temubaweerezanga era temuwangayo ssaddaaka gyebali: naye Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogwagololwa oyo gwe mubanga musinza, gwe mubanga muvuunamira, era oyo gwe mubanga muwa ssaddaaka; amateeka ge mwalagirwa ne biragiro bye yabawandiikira, munaabikwatanga ne mubikola ennaku zonna; so temusinzanga bakatonda balala: n'endagaano gye ndagaanye nammwe temugyerabiranga; so temusinzanga bakatonda balala: naye Mukama Katonda wammwe gwe mubanga musinza; era ye anaabalokolanga mu mukono gw'abalabe bammwe bonna. Naye ne batawulira ne bakola nga empisa zabwe ez'edda bwe zali. Kale abantu ab'amawanga ago ne basinzanga Mukama, kyokka era ne basinzanga n'ebifaananyi bya bakatonda babwe ebyole. N'abaana baabwe nabo bwe batyo bwe baakolanga, era ne bazzukulu baabwe bwe bakyakola n'okutuusa kati. Awo olwatuuka mu mwaka ogwokusatu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri, Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda n'atandika okufuga. Yali awezzeza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abi muwala wa Zekkaliya. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi jjajjaawe bwe yakolanga. Yaggyawo ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n'atemera ddala Baasera: n'amenyamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola; kubanga okutuusa mu kiseera ekyo abaana ba Isiraeri bali bakyagwoterereza obubaane; naye Keezeekiya n'aguyita Kikomo bukomo. Ne yeesiga Mukama Katonda wa Isiraeri; ne watabaawo n'omu mu bakabaka bonna aba Yuda amufaanana mu abo abaamusooka wadde abaamuddirira. Kubanga yeegatta ne Mukama, teyaleka kumugoberera naye n'akwata ebiragiro bye Mukama bye yalagira Musa. Awo Mukama n'abanga naye; buli gye yagendanga yonna n'afunanga omukisa: n'ajeemera kabaka w'e Bwasuli n'atamuweereza. N'akuba Abafirisuuti okubatuusa e Gaza n'ebitundu ebikyetoolodde; n'awamba ekigo eky'omukuumi n'ebibuga ebiriko bbugwe. Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogwa kabaka Keezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'alumba Samaliya n'akizingiza. Emyaka esatu bwe gyayitawo Samaliya nga kizingiziddwa, ne bakimenya ne bakiwangula: gwe mwaka ogw'omukaaga ogwa kabaka Keezeekiya kabaka wa Yuda ate nga gwe mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isiraeri. Awo kabaka w'e Bwasuli n'atwala aba Isiraeri nga basibe e Bwasuli abamu n'abateeka e Kala, abalala e Kaboli ku mugga ogw'e Gozani, n'abalala mu bibuga eby'Abameedi: kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye ne basobya endagaano ye, byonna Musa omuddu wa Mukama bye yalagira, ne batakkiriza kubiwulira newakubadde okubikola. Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ogwa kabaka Keezeekiya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, n'abimenya n'abiwangula. Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n'atumira kabaka w'e Bwasuli e Lakisi ng'ayogera nti Nnyonoonye; ndeka oddeyo: by'ononsalira nja kubikuwa. Awo kabaka w'e Bwasuli n'asalira Keezeekiya kabaka wa Yuda effeeza talanta bisatu (300) n'ezaabu talanta asatu (30). Era Keezeekiya n'abambula effeeza yonna eyali mu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka. Mu biro ebyo Keezeekiya n'abambula ezaabu eyali ku nzigi za Yeekaalu ya Mukama ne ku mpagi Keezeekiya kabaka wa Yuda gye yali abisseeko, n'agiwa kabaka w'e Bwasuli. Awo kabaka w'e Bwasuli ng'ali e Lakisi n'atuma Talutani ne Labusalisi ne Labusake ng'ayima e Lakisi eri kabaka Keezeekiya, nga balina eggye eddene okulumba Keezeekiya kabaka wa Yuda eyali e Yerusaalemi. Awo bwe batuuka e Yerusaalemi ne bayimirira ku lusalosalo olukulukutiramu amazzi agava mu kidiba ekiri ku luguudo olw'ennimiro ey'omwozi w'engoye. Awo bwe batumya kabaka, abakungu ba kabaka bano: Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'olubiri, ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omukuumi w'ebiwandiiko, ne bagenda okumusisinkana. Awo Labusake n'abagamba nti Mugambe nno Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu ow'e Bwasuli nti Weesiga ki? Oyogera bigambo bugambo bya kamwa. Olina amagezi n'amaanyi ag'okulwana. Ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera? Laba Misiri gwe weesiga, lwe lumuli olw'atifu olufumita ekibatu ky'oyo alwesigamyeko ng'omuggo. Bw'atyo kabaka w'e Misiri bwali eri bonna abamwesiga. Naye bwe munaŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gw'aggidewo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino mu Yerusaalemi? Kale kaakano ka mbasoomoze kulwa mukama wange kabaka w'e Bwasuli, nja kukuwa embalaasi enkumi bbiri (2,000) bw'onooba oyinza okuzifunirako abazeebagala. Oyinza ggwe okwaŋŋanga omu kuffe asembayo obuto mu ggye lya mukama wange nga weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi. Olowooza nga n'alumba ekifo kino okukizikiriza nga Mukama si ye annyamba? Mukama yennyini ye yaŋŋamba nti Lumba ensi eyo ogizikirize. Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna ne Yowa, ne bagamba omukungu Omwasuuli nti Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi olusuuli kubanga tulutegeera, naye toyogera naffe mu Lwebbulaniya ng'abantu abali ku kisenge bawulira. Omukungu Omwasuli n'addamu nti Mulowooza nga mukama wange yantuma kubuulira mukama wammwe nammwe mwekka ebigambo bino? Yantuma kubuulira n'abasajja abatuula ku ntikko y'ekigo, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe. Awo omukungu oyo n'ayimirira, n'alangirira mu lulimu olw'Ebbulaniya n'eddoboozi ery'omwanguka nti Muwulire kabaka omukulu owa Bwasuli ky'abagamba. Abalabula nti Keezeekiya aleme kubalimbalimba, kubanga tayinza kubawonya mmwe kubaggya mu mikono gyange: so Keezeekiya tabeesizanga Mukama ng'ayogera nti Mukama talirema kutulokola, n'ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli. Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga kabaka wa Bwasuli agamba nti Mutabagane nange, mufulume mweweeyo gye ndi. Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye, n'eby'emitiini gye, era munnanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe; okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku ez'emizabbibu, ensi ey'amafuta aga Zeyituuni n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme okufa: so temuwuliriza Keezeekiya bw'abasendasenda ng'abagamba nti Mukama alitulokola. Waliwo katonda yenna ku bakatonda b'amawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli? Bali ludda wa bakatonda b'e Kamasi n'ab'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda b'e Sefavayimu, ab'e Keena, n'ab'e Yiva? Baalokola Samaliya mu mukono gwange? Baani ku bakatonda bonna ab'ensi abaalokola ensi yaabwe mu mukono gwange, olwo Mukama alyoke alokole Yerusaalemi mu mukono gwange? Naye abantu ne basirika ne batamuddamu kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kityo nti Temumuddamu. Awo Eriyakimu eyali omukulu w'olubiri ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu eyakuumanga ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebigambo byonna Labusake bye yayogera. Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza ebyambalo bye ne yeesiiga evvu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama. N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'olubiri, ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona nga bambadde ebibukutu eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. Ne bamugamba Isaaya nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lwa buyinike era lwa kunenyezebwa nakuvumibwa: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa, so tewali maanyi ga kuzaala. Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo byonna ebya Labusake kabaka w'e Bwasuli mukama we gwe yatuma okuvuma Katonda omulamu, alyoke amukangavvule olw'ebigambo ebyo Mukama Katonda by'awulidde. Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya. Awo Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe muba mugamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde abaddu ba kabaka w'e Bwasuli kye banzivvoodde. Laba, n'ateeka omwoyo mu ye, bw'anaawulira olugambo n'addayo mu nsi ye, nange ndimuzikiririza mu nsi ye n'ekitala. Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'avudde e Lakisi nga alwanyisa ab'e Libuna, n'agenda gyali. Kabaka w'e Bwasuli bwe yawulira nga boogera nti Tiraka, kabaka w'e Esiyoopya amulumbye okumulwanyisa n'atumira Keezeekiya ababaka nate nga amugamba nti, Mugende mugambe Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'agamba nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli. Wawulira bakabaka b'e Bwasuli bye baakola ensi zonna nga bazizikiririza ddala, ggwe oliwona? Bajjajjange baazikiriza ebibuga Gozani, ne Kalani ne Lezefu, ne batta Abeedeni abaali mu Terasali. Waliwo ku bakatonda baabwe eyasobola okubawonya? Kabaka w'e Kamasi ali ludda wa ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu, ow'e Keena n'ow'e Yiva? Awo Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: awo Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'agyanjuliriza mu maaso ga Mukama. Awo Keezeekiya n'asaba mu maaso ga Mukama n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, ow'obwakabaka bwonna obw'ensi; ggwe wakola eggulu n'ensi. Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire; zibula amaaso go, ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo bya Sennakeribu by'atumye omuddu we okuvuma Katonda omulamu. Mazima, Mukama, bakabaka b'e Bwasuli baazikiriza amawanga n'ensi zaabwe, era baasuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga bakatonda naye baali mulimu gwa mikono gy'abantu, emiti n'amayinja; kyebaava basobola okubazikiriza. Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole, nkwegayiridde, mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'ensi bumanye nga ggwe wekka, ggwe Mukama Katonda. Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga onsabye olwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, nkuwulidde. Kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: nti Omuwala wa Sayuuni atamanyanga musajja akuŋŋoodde, akusekeredde; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe. Ani gw'ovumye gw'ovvodde? Ani gw'ogulumirizzaako eddoboozi lyo n'oyimusa waggulu amaaso go? Ye Mutukuvu wa Isiraeri. Otumye ababaka bo okunneewaanirako nga bwe wakozesa amagaali go, n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti wasenserera ddala mu bitundu by'ebibira ebisingayo okuba ebikwafu. Weewaanye nti Nsimye enzizi, nnywedde amazzi ag'abannamawanga, era ebigere by'abaserikale bange bikkalizza emigga gyonna egy'e Misiri. Tewakiwulirako nti nze n'ategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa ebibuga ebiriko buggwe okubifuula amatongo. Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula. Naye mmanyi okutuula kwo n'okufuluma kwo n'okuyingira kwo ne bw'ondalukira. Kubanga ondalukira era kubanga essukuti lyo lirinnye mu matu gange, kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja. Awo Isaaya n'agamba kabaka Keezeekiya nti Kano ke kanaaba akabonero akakulaga ebinaabaawo: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogwokubiri ekyo ekikivaamu okuloka; ne mu mwaka ogwokusatu musige mukungule musimbe ensuku ez'emizabbibu mulye ku bibala byamu. Awo ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emizi wansi ne babala ebibala waggulu. Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifiseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: Mukama amaliridde okutuukiriza ekyo. Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talikirasako kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako ntuumo za ttaka okukyetooloola. Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw'ayogera Mukama. Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi. Awo olwatuuka mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abasuuli abasserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano (185,000). Enkeera ku makya abo bonna nga bafu. Awo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'adduka n'addayo e Nineeve. Lumu bwe yali mu ssabo ng'asinza katonda we Nisuloki, batabani be, Adulammereki ne Salezeri ne bamutta n'ekitala, ne baddukira mu nsi y'e Alalati. Esaladoni mutabani we n'afuga mu kifo kye. Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama. Awo Keezeekiya n'akyuka n'atunula ku kisenge, ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti Jjukira kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga. Awo Isaaya bwe yafuluma naye nga tanayita mu luggya olwa wakati olw'olubiri lwa kabaka, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, era ndabye amaziga go: nja kukuwonya. Ku lunaku olwokusatu kw'olinnyira mu nnyumba ya Mukama. Ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano (15); era ndikulokola ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli; era ndirwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi. Awo Isaaya n'agamba nti Muleete ekitole ky'ettiini; ne bakireeta ne bakiteeka ku jjute, n'awona. Awo Keezeekiya n'abuuza Isaaya nti Kabonero ki akakasa nga Mukama anaamponya era nga ku lunaku olwokusatu nja kusobola okugenda nnyingire mu nnyumba ya Mukama? Isaaya n'amuddamu nti Kano ke kanaaba akabonero gy'oli akava eri Mukama akakasa nga Mukama anaakola ekyo ky'ayogedde: ekisiikirize kinnatambula okugenda mu maaso amadaala kkumi, oba okudda emabega amadaala kkumi. Awo Keezeekiya n'addamu nti Ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala ekkumi ekyo kyangu, naye kidde emabega amadaala kkumi. Nnabbi Isaaya n'eyegayirira Mukama n'azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi, ge kyali kikkiddeko ku madaala ga Akazi. Mu biro ebyo Berodakubaladani kabaka w'e Babbulooni mutabani wa Baladani n'awandiikira Keezeekiya ebbaluwa, n'amuweereza n'ekirabo: kubanga yawulira Keezeekiya bwe yali alwadde. Awo Keezeekiya n'ayaniriza abaabireta, n'abalaga ennyumba yonna ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza n'ezaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi n'ennyumba ey'eby'okulwanyisa bye ne byonna ebyalabika mu by'obugagga bwe: tewali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga. Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amubuuza nti Abasajja bano boogedde ki naawe? Era bavudde wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'addamu nti Bava mu nsi ey'ewala e Babbulooni. N'amubuuza nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze. Isaaya n'agamba Keezeekiya nti Wulira ekigambo kya Mukama. Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babbulooni: tewali kintu ekirisigala, bw'ayogera Mukama. Era balitwala abamu ku batabani bo ne bazukkulu bo: ne babalama olw'okuweereza mu lubiri lwa kabaka w'e Babbulooni. Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi: kasita mu kiseera kyange wanaabaawo emirembe n'amazima. Ebikolwa byonna ebya Keezeekiya n'amaanyi ge gonna era bwe yasima ekidiba n'olusalosalo n'aleeta amazzi mu kibuga byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Manase mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Manase yali awezezza emyaka kkumi n'ebiri (12) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ataano mu etaano (55) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye nga ye Kefuziba. Manase n'akola ebibi mu maaso ga Mukama, eby'emizizo, ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri bye bakolanga. N'azimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yazikiriza; n'azimbira Baali ebyoto n'akola n'ekifaananyi kya Asera nga Akabu kabaka wa Isiraeri bwe yakola n'asinza era n'awereza ne emmunyeenye zonna ez'omu ggulu. N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange. Era n'azimbira emmunyeenye zonna ez'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama. N'ayokya mutabani we mu muliro nga ssaddaaka, n'akola eby'obufumu n'aba n'eby'obulogo, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza. N'akola ekifaananyi kya Asera n'akiteeka mu nnyumba ya Mukama; Mukama gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri mwe nditeeka erinnya lyange emirembe gyonna. Abaana ba Isiraeri bwe baneekuumanga okukola nga byonna bye mbalagidde, era nga amateeka gonna bwe gali omuddu wange Musa geyabalagira; siribaggya nate mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe okugituulamu. Naye ne batawulira: Manase n'abasendasenda okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yazikiriza mu maaso g'abaana ba Isiraeri. Awo Mukama n'ayogerera mu baddu be bannabbi nti Kubanga Manase kabaka wa Yuda akoze eby'emizizo bino era akoze obubi okusinga byonna Abamoli bye baakola abaamusooka, era aleetedde ne Yuda okwonoona nga basinza ebifaananyi bye yateekawo. Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera nti Laba, ndeeta ku Yerusaalemi ne Yuda obubi obwenkana awo, buli abuwuliranga n'okwanaamirira amatu ge gombi gaanayanamiriranga. Ndibonereza Yerusaalemi nga bwe n'abonereza Samaliya, era nga bwe n'abonereza Akabu kabaka wa Isiraeri n'ab'ezzadde lye. Ndisaanyaawo abantu mu Yerusaalemi, ng'omuntu bw'asiimuula essowaani: bw'amala okugisiimuula, n'agivuunika. Era ndyabulira ekitundu ekifisseewo eky'abantu bange ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe; ne bafuuka muyiggo era munyago eri abalabe baabwe bonna; kubanga bakoze ebiri mu maaso gange ebibi ne bansunguwaza okuva ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviira mu Misiri ne leero. N'ekitala, Manase yatta abantu bangi nnyo, n'ajjuza Yerusaalemi omusaayi gw'abatalina musango; n'ayongerako okuleetera ab'omu Yuda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. Ebikolwa ebirala byonna ebya Manase ne byonna bye yakola n'okwonoona kwe kwe yayonoona byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu lusuku olw'oku nnyumba ye ye, mu lusuku lwa Uzza: Amoni mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Amoni yali awezzeza emyaka abiri mu ebiri (22) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow'e Yotuba. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakola. N'atambulira mu kkubo lyonna kitaawe lye yatambuliramu n'aweereza ebifaananyi kitaawe bye yaweereza n'abisinza: n'ava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe n'atatambulira mu kkubo lya Mukama. Abaddu ba Amoni ne bamukolera olukwe ne bamutemulira mu nnyumba ye. Naye abantu ab'omu nsi ne batta abo bonna abakola olukwe olw'okutta Amoni kabaka; abantu ab'omu nsi ne bamusikiza Yosiya mutabani we. Ebikolwa byonna ebya Amoni bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. N'aziikibwa mu ntaana ye mu lusuku lwa Uzza: Yosiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Yosiya yali awezzeza emyaka munaana bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka asatu mu gumu (31) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye nga ye Yedida muwala wa Adaya ow'e Bozukasi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambulira mu kkubo lyonna erya Dawudi jjajjaawe n'atakyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n'atuma Safani omuwandiisi mutabani wa Azaliya, muzzukulu wa Mesullamu eri ennyumba ya Mukama ng'agamba nti Genda eri Kirukiya kabona asinga obukulu, omugambe abale effeeza ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, abaggazi ze baakasolooza ku bantu: baziwe abakozi abaddabiriza ennyumba ya Mukama; ababazzi n'abazimbi b'amayinja; olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuddaabiriza ennyumba. Naye tebaabala muwendo ogwabakwasibwa, kubanga baakola n'obwesigwa. Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n'agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Awo Kirukiya n'awa Safani ekitabo n'akisoma. Awo Safani omuwandiisi n'ajja eri kabaka n'addiza kabaka ebigambo n'ayogera nti Abaddu bo baggyeemu effeeza ezirabise mu nnyumba, ne baziwa abakozi b'emirimu abaddabiriza ennyumba ya Mukama. Awo Safani omuwandiisi n'agamba kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'akisomera mu maaso ga kabaka. Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'ekitabo eky'amateeka, n'atya n'anakuwala n'ayuza ebyambalo bye. Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona ne Akikamu mutabani wa Safani ne Akubooli mutabani wa Mikaaya ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka n'abagamba nti Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abantu bonna ab'omu Yuda, ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaagondera bigambo biri mu kitabo kino, byonna ebyatuwandiikirwa tubikole. Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akubooli ne Safani ne Asaya ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kirukasi. Omukazi oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olwokubiri; ne bateesa naye ku nsonga eyo. Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mumugambe omusajja obatumye gye ndi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ng'ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda ky'asomye bwe biri: kubanga abantu bange banvuddeko ne bookera obubaane eri bakatonda abalala bansunguwaze n'omulimu gwonna ogw'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuliva bubuubuuka ku kifo kino so tebulizikira. Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde, nnagonza omutima gwo ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw'owulidde bye nnayogera ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nga kirifuuka matongo n'ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, ne nkusaasira, bw'ayogera Mukama. Nange kyendiva nkukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n'ozikiibwa mirembe mu ntaana yo, naawe toliraba bubi bwonna bwe ndireeta mu kifo kino. Ne baddiza kabaka ebigambo ebyo. Awo kabaka Yosiya n'atumya, abakadde bonna aba Yuda ne Yerusaalemi bakuŋŋaanire waali. Kabaka n'agenda mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda n'abe Yerusaalemi, bakabona, bannabbi n'abantu bonna, abato n'abakulu nga bali naye: n'abasomera ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekyazuulibwa mu nnyumba ya Mukama. Kabaka n'ayimirira awali empagi n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambula okugoberera Mukama n'okukwata amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna okunyweza ebigambo by'endagaano eno ebyawandiikibwa mu kitabo kino: abantu bonna ne bayimirira nabo okukakasa endagaano. Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona ab'omutindo ogwokubiri n'abaggazi, okufulumya mu Yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebyakolerwa Baali ne Asera ne mmunyeenye ez'omu ggulu: n'abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri ku Kidulooni, n'evvu lyabyo n'alitwala e Beseri. N'aggyawo bakabona abaasinzanga ebifaananyi bakabaka ba Yuda be baayawula okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetooloode Yerusaalemi; n'abo abaayotererezanga obubaane Baali n'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye. N'aggya ekifaananyi kya Asera mu nnyumba ya Mukama n'akitwala ebweru wa Yerusaalemi n'akireeta ku kagga Kidulooni n'akyokera ku kagga Kidulooni n'akirinnyirira n'akifuula effufugge, n'amansa effufugge lyakyo ku malaalo g'abakopi. N'amenyamenya ennyumba ez'abaalyanga ebisiyaga ezaali mu nnyumba ya Mukama, abakazi gye baalukiranga ebitimbibwa ku kifaananyi kya Asera. N'aggyawo bakabona bonna mu bibuga bya Yuda byonna, n'asanyaawo ebifo ebigulumivu bakabona kwe baayoterezanga obubaane, okuva e Geba okutuuka e Beeruseba; n'amenyamenya ebifo ebigulumivu ebyali okumpi n'awayingirirwa ku mulyango gwa Yoswa omukulu w'ekibuga, ebyali ku mukono ogwa kkono ng'oyingira mu wankaaki w'ekibuga. Kyokka bakabona abo abaakoleranga mu bifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, ne batakkirizzibwa kuweereza mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, naye baayinzanga okulya ku migaati egitazimbulukusiddwa egiweereddwa bakabona bannaabwe. Era n'asanyawo Tofesi ekiri mu kiwonvu eky'abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okwokera mutabani we oba muwalawe mu muliro okuba ssaddaaka eri katonda Moleki. N'aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawongedde enjuba, ezaali okumpi n'awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyali eriraanye Yeekaalu; n'ayokya omuliro amagaali agawongebwa eri enjuba. N'amenyamenya ebyoto ebyali waggulu ku nju eya waggulu eya Akazi, ne bakabaka ba Yuda bye baali bakoze, n'ebyoto Manase bye yali akoze, mu mpya zombi ez'ennyumba ya Mukama, n'abisuula wansi, naddira ebitundutundu byabyo, n'abisuula mu kagga Kidulooni. N'ebifo ebigulumivu ebyayolekera Yerusaalemi ebyali ku mukono ogwa ddyo ogw'olusozi olw'obwonoonefu, Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yazimbira Asutaloosi katonda w'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni abali ab'omuzizo mu Yuda, kabaka Yosiya n'abisanyawo. N'amenyamenya empagi n'atema Baasera, ebifo byabwe n'abijjuzaamu amagumba g'abafu. N'agenda e Beseri eyali ekyoto n'ekifo ekigulumivu, Yerobowaamu mutabani wa Nebati byeyakola naaleetera Isiraeri okwonoona; n'abimenyaamenya, n'ayokya ekifo ekigulumivu, n'akirinnyirira n'akifuula effufugge, n'ayokya n'ekifaananyi kya Asera katonda omukazi. Awo kabaka Yosiya bwe yatunulatunula n'alaba amalaalo agali eyo ku lusozi; n'atuma n'alagira ne baggyamu amagumba, n'agookera ku kyoto n'akyonoona ng'ekigambo kya Mukama, omusajja wa Katonda kye yalangirira ku kifo ekyo bwe kyali. Awo kabaka n'abuuza nti Ekijjukizo ekyo kye ndaba kyani? Abasajja ab'omu kibuga ne bamuddamu nti Ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'alangirira ebigambo ebyo by'okoze ku kyoto eky'omu Beseri. N'ayogera nti Mumuleke; omuntu yenna aleme okusimula amagumba ge. Awo ne baleka amagumba ge wamu n'amagumba ga nnabbi eyava mu Samaliya. Era n'amasabo gonna ag'ebifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samaliya, bassekabaka ba Isiraeri ge baakola, okusunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo n'agakola ng'ebikolwa byonna bwe byali bye yakola mu Beseri. N'attira bakabona bonna ab'ebifo ebigulumivu abali eyo ku byoto, n'abyokerako amagumba g'abantu; n'addayo e Yerusaalemi. Awo kabaka Yosiya n'alagira abantu bonna nti Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino eky'endagaano. Okuviira ddala ku mirembe gy'Abalamuzi abaafuga Isiraeri, waali tewabangawo Mbaga ejjuukirirwako Kuyitako yenkana awo, newakubadde mu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri, wadde mu gya bassekabaka ba Yuda. Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogwa kabaka Yosiya ne bakwata Okuyitako okwo eri Mukama mu Yerusaalemi. Era nate Yosiya n'aggyawo mu Yerusaalemi ne mu Yuda abo abaaliko emizimu n'abasawo ne baterafi n'ebifaananyi n'emizizo gyonna, alyoke anyweze ebigambo eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama. Era tewali mu bakabaka bonna abaamusooka wadde abaamuddirira eyafaanana Yosiya mu kukyukira Mukama n'omutima gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna n'emmeeme ye yonna okutuukiriza amateeka ga Musa gonna nga bwe gali. Era Mukama teyaleka kiruyi kye ekingi ekyamusunguwaliza Yuda olw'ebyo Manase bye yakola ebyamusunguwaza. Mukama n'ayogera nti Ndiggyawo Yuda ne bwenaggyawo Isiraeri era ndisuula ekibuga kino Yerusaalemi kyenneroboza, n'ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange mwe linasinzirizibwanga. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda Mu mirembe gye Yosiya, Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atwala eggye lye ku mugga Fulaati okuyamba kabaka w'e Bwasuli. Kabaka Yosiya n'agenda okumulwanyisa. Neeko bwe yalaba Yosiya n'amuttira e Megiddo. Abaddu be ne bamusitulira mu ggaali ng'afudde ne bamuggya e Megiddo, ne bamutwala e Yerusaalemi ne bamuziika mu ntaana ye. Abantu ab'omu Yuda ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe. Yekoyakaazi bwe yali awezezza emyaka abiri mu esatu (23), bwe yatandika okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. Yekoyakaazi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola. Awo Falaawoneko n'amusibira mu masamba e Libula mu nsi y'e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n'asalira ensi omusolo ogw'effeeza talanta kikumi (100) n'ezaabu talanta emu. Awo Falaawoneko n'afuula Eriyakimu mutabani wa kabaka Yosiya; okuba kabaka mu kifo kya kitaawe, n'akyusa erinnya lye n'amutuuma Yekoyakimu: Falaawoneko n'atwala Yekoyakaazi e Misiri n'afiira eyo. Kabaka Yekoyakimu n'asolooza ffeeza n'ezaabu ku bantu b'omu nsi ye okusinziira ku nfuna yaabwe, alyoke aweze omuwendo gw'ensimbi ez'omusolo kabaka w'e Misiri gwe yamulagira okusasula. Yekoyakimu yali awezezza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow'e Luuma. Yekoyakimu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola. Mu mirembe gye Yekoyakimu, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'agenda n'alumba Yuda, n'afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu, oluvannyuma n'akyuka n'amujeemera. Awo Mukama n'asindika ebibinja bya b'Abakaludaaya, neby'Abasuuli, n'eby'Abamowaabu, n'eby'Abamoni, okulumba Yekoyakimu, bizikizirize Yuda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu baddu be bannabbi. Mazima ekyo kyajjira Yuda lwa kiragiro kya Mukama, okubaggya mu maaso ge olw'okwonoona kwa kabaka Manase; era n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa; kubanga yajjuza Yerusaalemi omusaayi ogutaliiko musango: Mukama n'atamusonyiwa. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda Awo Yekoyakimu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Yekoyakini mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Kabaka wa Misiri teyaddamu kuva mu nsi ye kujja kulumba, kubanga kabaka w'e Babbulooni yali yeefuze ekitundu kyonna ekyabanga ekya kabaka w'e Misiri, okuva ku kagga k'e Misiri, okutuuka ku mugga Fulaati. Yekoyakini yali awezzeza emyaka kkumi na munaana (18) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow'e Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakolanga. Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni ne ligenda ne lizingiza ekibuga Yerusaalemi. Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, n'agenda ne Yerusaleemi, eggye nga likyakizingiza. Yekoyakini kabaka wa Yuda, yali awezezza emyaka munaana kasookedde alya obwakabaka: n'afuluma n'agenda ne yeewaayo eri kabaka w'e Babbulooni, ye ne nnyina, n'abaddu be n'abakungu be n'abaami be, n'amukwata n'amusiba. Kabaka Nebukadduneeza n'aggyamu eby'obugagga byonna eby'omu nnyumba ya Mukama, ne byali mu nnyumba ya kabaka, n'abitwala, era n'atematema ebintu byonna ebya zaabu Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yakola mu Yeekaalu ya Mukama nga Mukama bwe yayogera. N'atwala abantu b'omu Yerusaalemi nga basibe: abakungu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe omutwalo gumu (10,000) bonna awamu, omwali abaweesi, n'abakugu bonna mu mirimu egitali gimu. Tewali baasigalayo mu Yuda, okuggyako abo abaali abaavu ennyo. N'atwala Yekoyakini e Babbulooni; ne nnyina kabaka ne baka kabaka n'abaami be n'abakulu ab'ensi n'abatwala e Babbulooni nga basibe ng'abaggya e Yerusaalemi. Abasajja bonna ab'amaanyi abazira baali kasanvu (7,000). Abakugu mu kukola emirimu, omwali n'abaweesi, baali lukumi (1,000). Bonna abo baali bazira abasobola okulwana mu lutalo, n'abatwala e Babbulooni nga basibe. Awo kabaka w'e Babbulooni n'afuula Mataniya, kitaawe omuto owa Yekoyakini, n'amufuula kabaka mu kifo kya Yekoyakini, n'akyusa erinnya lye, n'amutuuma Zeddekiya. Zeddekiya yali awezezza emyaka abiri mu gumu (21) bwe yatandika okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. Kabaka Zeddekiya n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yakola. Olw'okubanga Mukama yasunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemi, n'ab'omu Yuda, kyeyava abagoba mu maaso ge: Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babbulooni. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda kasookedde Zeddekiya alya obwakabaka, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'atwala eggye lye lyonna, n'alumba Yerusaalemi okukirwanyisa, n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna. Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuusa ku mwaka ogwa kabaka Zeddekiya ogw'ekkumi n'ogumu (11). Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna enjala n'enyiikira nnyo mu kibuga, emmere n'okubula n'ebula abantu ab'omu nsi eyo. Awo ne bakuba ekituli mu bbugwe we kibuga, abasajja bonna abalwanyi ne batoloka kiro, newakubadde nga Abakaludaaya bali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Ne bakwata ekkubo eriyita mu nnimiro ya kabaka, ne bayita mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, kabaka n'agenda nabo nga bayita mu kkubo lya Alaba. Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bawondera kabaka Zeddekiya ne bamutuukako mu nsenyi ez'e Yeriko: eggye lye lyonna nerimwabulira nerisaasaana. Awo ne bawamba kabaka, ne bamutwala eri kabaka w'e Babbulooni e Libula; n'amusalira omusango okumusinga. Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ng'alaba, ye ne bamusiba mu masamba, ne bamutwala e Babbulooni. Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda (19) ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa omuddu wa kabaka w'e Babbulooni n'agenda e Yerusaalemi. n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ennene ez'omu Yerusaalemi, n'azookya omuliro. N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali n'omukulu w'abambowa ne bamenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna. Abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n'abo abaali beewaddeyo ne badda ku ludda lwa kabaka wa Babbulooni awamu n'abalala bonna, Nebuzaladaani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'abatwala e Babbulooni nga basibe. Naye omukulu w'abambowa n'aleka abantu b'omu nsi abali abaavu ennyo, okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga mu nnimiro. Abakaludaaya ne bamenyamenya n'empagi ez'ebikomo ezaali mu Yeekaalu, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, n'ogutanka ogunene, eby'ekikomo, ne balyoka batwala ekikomo kyabyo e Babbulooni. N'entamu n'ebisena n'ebisalako ebisiriiza ku ttala n'ebijiiko n'ebintu byonna eby'ebikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu ne babitwala. Na buli kintu ekyakolebwa mu zaabu oba mu ffeeza, omuli n'ebyoterezo n'ebbakuli, Nebuzaladaani n'akitwala. Empagi zombi, n'ettanka ennene, n'entebe Sulemaani ze yakolera ennyumba ya Mukama; obuzito bwe kikomo ky'ebintu bino byonna nga tebupimika. Empagi emu obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana (18), nga eriko omutwe ogw'ekikomo obugulumivu bwagwo emikono esatu, nga eriko ebifaananyi by'emikufu n'eby'amakomamawanga ku mutwe okwetooloola, nga byonna bya kikomo. N'empagi eyokubiri nayo ekoleddwa mu ngeri y'emu. Omukulu w'abambowa n'akwata Seraya kabona asinga obukulu ne Zeffaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu: Ne mu kibuga, n'aggyamu omukungu eyali akulira ab'amaggye, n'abasajja bataano ku abo abaatukiriranga kabaka okuwa amagezi abaali bakyali mu kibuga, n'omuwandiisi omukulu, eyawandiikanga abasserikale mu ggye mu ggwanga, n'abasajja nkaaga (60) ku bantu abatutumufu mu ggwanga, abaali bakyali mu kibuga. Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abakwata n'abatwalira kabaka w'e Babbulooni e Libula. Kabaka w'e Babbulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi y'e Kamasi. Bwe batyo abantu ba Yuda bwe bagyibwa mu nsi yabwe nebawaŋŋangusibwa. Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ateekawo Gedaliya, mutabani wa Akikamu, era muzzukulu wa Safani, okuba omufuzi w'abantu abaasigala mu Yuda. Awo abakulu bonna mu ggye lya Yuda ne basajja baabwe abali basaasanidde mu nsi nga tebewaddeyo eri kabaka w'e Babbulooni, bwe baawulira nga kabaka we Babbulooni ataddewo Gedaliya okufuga Yuda, ne bagenda e Mizupa gye yali. Abagenda be bano: Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa ne Yaazaniya omwana w'Omumaakasi, bo n'abasajja baabwe. Gedaliya n'abalayirira, bo ne basajja baabwe, n'abagamba nti Temutya bakungu Abakaludaaya. Musigale mu nsi eno, muweereze kabaka w'e Babbulooni, mujja kuba bulungi. Naye olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya mutabani wa Erisaama ow'ezzadde lya kabaka n'ajja n'abasajja kkumi (10) wamu naye ne bafumita Gedaliya ne bamutta awamu n'Abayudaaya n'Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa. Awo abantu bonna abato n'abakulu n'abaami b'eggye ne basituka ne baddukira e Misiri: kubanga baatya Abakaludaaya. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu mu musanvu (37) ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'abiri mu musanvu Evirumerodaki mwe yafukira kabaka w'e Babbulooni; n'akwatirwa Yekoyakini kabaka wa Yuda ekisa, n'amuggya mu kkomera. N'ayogera naye eby'ekisa, n'amusukulumya ku bakabaka abalala bonna abaali mu buwaŋŋanguse e Babbulooni. Yekoyakini n'aggyibwa mu byambalo by'ekkomera, era okuva olwo n'aliiranga ku mmeeza ya kabaka obulamu bwe bwonna. Kabaka n'alagira bamuwenga omugabo ogwa buli lunaku, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu. Adamu yazaala Seezi, Seezi n'azaala Enosi, Enosi n'azaala, Kenani, Kenani n'azaala Makalaleri, Makalaleri n'azaala Yaledi, Yaledi n'azaala, Enoka, Enoka n'azaala Mesuseera, Mesuseera n'azaala Lameka, Lameka n'azaala Nuuwa, Nuuwa n'azaala Seemu, Kaamu ne Yafeesi. Batabani ba Yafeesi be bano: Gomeri, Magogi, Madayi, Yavani, Tubali, Meseki ne Tirasi. Batabani ba Gomeri be bano: Asukenaazi, Difasi ne Togaluma. Batabani ba Yavani be bano: Erisa, Talusiisi, Kittimu ne Lodanimu. Batabani ba Kaamu be bano: Kuusi, Mizulayimu, Puti ne Kanani. Batabani ba Kuusi be bano: Seeba, Kavira, Sabuta, Laama ne Sabuteka. Batabani ba Laama ye Seeba ne Dedani. Kuusi yazaala Nimuloodi, eyasooka okuba omuntu omulwanyi ow'amaanyi ku nsi. Mizulayimu n'azaala Ludimu, Anamimu, Lekabimu, Nafutukimu, Pasulusimu, Kasulukimu ne Kafutolimu; Abafirisuuti mwe basibuka. Kanani n'azaala Sidoni omubereberye we, ne Keesi. Era Kanani ye yasibukamu Abayebusi, Abamoli, Abagirugaasi; Abakiivi, Abaaluki, Abasiini; Abaluvadi, Abazemali n'Abakamasi. Batabani ba Seemu be bano: Eramu, Asuli, Alupakusaadi, Luddi, Alamu, Uzi, Kuuli, Geseri ne Meseki. Alupakusaadi n'azaala Seera, Seera n'azaala Eberi. Eberi yazaala abaana babiri ab'obulenzi: Omu ye Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi mwe yagabanyizibwamu; n'erinnya lya muganda we Yokutaani. Bano be batabani ba Yokutaani: Alumodaadi, Serefu, Kazalumaveesi, Yera; Kadolaamu, Uzali, Dikula; Ebali, Abimayeeri, Seeba; Ofiri, Kavira ne Yobabu. Obuzaale bwa Ibulayimu okuva ku Seemu: Seemu yazaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n'azaala Seera; Seera n'azaala Eberi, Eberi n'azaala Peregi, Peregi n'azaala Lewu, Lewu n'azaala Serugi, Serugi n'azaala Nakoli, Nakoli n'azaala Teera, Teera n'azaala Ibulaamu, ye Ibulayimu. Batabani ba Ibulayimu ye Isaaka ne Isimaeri. Bano be batabani ba Isimaeri: omubereberye ye Nebayoosi, n'addibwako Kedali, Adubeeri, Mibusamu, Misuma, Duma, Massa, Kadadi, Tema, Yetuli, Nafisi, ne Kedema. Batabani ba Ibulayimu be yazaala mu Ketula mukazi we omulala be bano: Zimulaani, Yokusaani, Medani, Midiyaani, Isubaki, Suwa. Ne batabani ba Yokusaani; Seeba ne Dedani. Batabani ba Midiyaani be bano: Efa, Eferi, Kanoki, Abida ne Erudaa. Abo bonna bazzukulu ba Ketula. Isaaka mutabani wa Ibulayimu yazaala babiri, Esawu ne Isiraeri. Batabani ba Esawu be bano: Erifaazi, Leweri, Yewusi, Yalamu ne Koola. Batabani ba Erifaazi be bano: Temani, Omali, Zeefi, Gatamu, Kenazi, Timuna ne Amaleki. Batabani ba Leweri be bano: Nakasi, Zeera, Samma, ne Mizza. Batabani ba Seyiri be bano: Lotani, Sobali, Zibyoni, Ana, Disoni, Ezeri ne Disani. Batabani ba Lotani be bano: Koli ne Komamu, Timuna yali mwannyina wa Lotani. Batabani ba Sobali be bano: Aliyani, Manakasi, Ebali, Seefi ne Onamu. Batabani ba Zibyoni ye Aya ne Ana. Mutabani wa Ana ye Disoni. Batabani ba Disoni be bano: Kamulani, Esubani, Isulani ne Kerani. Batabani ba Ezeri be bano: Birukani, Zaavani ne Yaakani. Yaakani yalina batabani be ba: Disani, Uzi ne Alani. Bano be bakabaka abaafuga mu nsi y'Abaedomu nga tewanaba kabaka n'omu afuga mu nsi ya Isiraeri: Bera mutabani wa Byoli; n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Dinukaba. Bera bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zeera ow'e Bozula n'afuga mu kifo kye. Yobabu bwe yafa, Kusamu ow'ensi y'Abatemani n'afuga mu kifo kye. Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi eyawangula Abamidiyaani mu lutalo olwali mu nsi ya Mowaabu n'afuga mu kifo kye: n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Avisi. Kadadi bwe yafa, Samula ow'e Masuleka n'afuga mu kifo kye. Samula bwe yafa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiri ku mugga n'afuga mu kifo kye. Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n'afuga mu kifo kye. Baalukanani bwe yafa, Kadadi n'afuga mu kifo kye; n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Payi: ne mukazi we erinnya lye yali Meketaberi muwala wa Matuledi, muzzukulu wa Mezakabu. Kadadi bwe yafa, ensi y'e Edomu n'efugibwa abakungu bano: Timuna, Aliya, Yesesi, Okolibama, Era, Pinoni Kenazi, Temani, Mibuzali, Magudyeri, Iramu. Abo be bakungu ba Edomu. Bano be batabani ba Isiraeri; Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda, Isakaali ne Zebbulooni; Ddaani, Yusufu ne Benyamini, Nafutaali, Gaadi ne Aseri. Batabani ba Yuda be bano: Eri, Onani ne Seera: abo bonsatule nnyaabwe yali Basusuwa Omukanani. Naye Eri omubereberye wa Yuda yali muntu mubi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta. Batabani ba Yuda abalala be bano: Pereezi ne Zeera. Abo yabazaala mu Tamali, mukaamwana we. Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano. Batabani ba Pereezi ye Kezulooni ne Kamuli. Batabani ba Zeera bali bataano be bano: Zimuli, Esani, Kemani, Kalukoli, ne Dala. Mutabani wa Kalumi yali Akali, eyaleetera Abaisiraeri omutawaana bwe yasobya ebintu ebyali biwongeddwa Katonda. Mutabani wa Esani ye Azaliya. Batabani ba Kezulooni be bano: Yerameeri, Laamu ne Kerubayi. Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nakusoni, omukulu w'abaana ba Yuda; Nakusoni n'azaala Saluma, Saluma n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi, Obedi n'azaala Yese; Yese yazaala abaana ab'obulenzi musanvu: Eriyaabu ye mubereberye, Abinadaabu ye w'okubiri, Simeeya ye w'okusatu, Nesaneeri ye w'okuna, Laddayi ye w'okutaano, Ozemu ye w'omukaaga, Dawudi ye w'omusanvu, Bannyinaabwe be bano; Zeruyiya ne Abbigayiri. Batabani ba Zeruyiya bali basatu be bano: Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri. Abbigayiri n'azaala Amasa: ne kitaawe wa Amasa yali Yeseri Omuisimaeri. Kalebu mutabani wa Kezulooni yalina abakazi babiri, omu nga ye Azuba n'omulala nga ye Yeriyoosi: ne bazaala abaana bano: Yeseri, Sobabu ne Aludoni. Azuba bwe yafa, Kalebu n'awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli. Kuuli n'azaala Uli, Uli n'azaala Bezaleeri. Kezulooni bwe yaweza emyaka nkaaga (60) n'awasa muwala wa Makiri, mwannyina Gireyaadi; n'amuzaalira Segubu. Segubu n'azaala Yayiri, Yayiri yali nnannyini bibuga abiri mu bisatu (23) mu nsi ya Gireyaadi. Obwakabaka bw'e Gesuli ne Alamu ne bunyagako ebibuga bya Yayiri, ne Kenasi n'ebyalo ebikyetoolodde, byonna awamu ebibuga nkaaga (60). Abo bonna abaali eyo be basibuka mu Makiri, kitaawe wa Gireyaadi. Awo Kezulooni ng'amaze okufiira mu Kalebu-efulaasa, Abiya nnamwandu we n'amuzaalira Asukuli kitaawe wa Tekowa. Batabani ba Yerameeri, omubereberye wa Kezulooni be bano; Laamu omubereberye, Buna, Oleni, Ozemu ne Akiya. Era Yerameeri yalina n'omukazi ow'okubiri erinnya lye Atala; oyo ye yazaala Onamu. Batabani ba Laamu omubereberye wa Yerameeri be bano: Maazi, Yamini ne Ekeri. Batabani ba Onamu ye Sammayi ne Yada: ate batabani ba Sammayi ye Nadabu ne Abisuli. Muka Abisuli erinnya lye Abikayiri; yamuzaalira Abani, ne Molidi. Batabani ba Nadabu ye Seredi ne Appayimu: kyokka Seredi n'afa nga tazadde mwana. Mutabani wa Appayimu yali Isi. Mutabani wa Isi yali Sesani. Ne mutabani wa Sesani yali Alayi. Batabani ba Yada, muganda wa Sammayi be bano: Yeseri ne Yonasaani: kyokka Yeseri yafa nga tazadde mwana. Batabani ba Yonasaani be bano: Peresi ne Zaza. Abo be basibuka mu Yerameeri. Sesani teyazaala baana ba bulenzi wabula ba buwala bokka. Sesani oyo yalina omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala. Sesani n'addira muwala we n'amuwa Yala omuddu we amuwase, omuwala oyo n'amuzaalira Attayi. Attayi n'azaala Nasani, Nasani n'azaala Zabadi; Zabadi n'azaala Efulali, Efulali n'azaala Obedi; Obedi n'azaala Yeeku, Yeeku n'azaala Azaliya; Azaliya n'azaala Kerezi, Kerezi n'azaala Ereyaasa; Ereyaasa n'azaala Sisumaayi, Sisumaayi n'azaala Sallumu; Sallumu n'azaala Yekamiya, Yekamiya n'azaala Erisaama. Batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeri be bano: Mesa omubereberye we, eyazaala Zifu, Zifu n'azaala Malesa, Malesa n'azaala Kebbulooni. Batabani ba Kebbulooni be bano: Koola, Tappuwa, Lekemu ne Seema. Seema n'azaala Lakamu, kitaawe wa Yolukeyaamu; Lekemu n'azaala Sammayi. Mutabani wa Sammayi yali Mawoni; era Mawoni yali kitaawe wa Besuzuli. Kalebu yalina omuzaana erinnya lye Efa eyamuzalira; Kalani, Moza ne Gazezi. Batabani ba Yadayi be bano: Legemu, Yosamu, Gesani, Pereti, Efa ne Saafu. Maaka omuzaana wa Kalebu n'azaala Seberi ne Tirukaana. Era n'azaala ne Saafu kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena ne Gibeya; ne muwala wa Kalebu yali Akusa. Bano era be batabani ba Kalebu: Kuuli ye mubereberye we mu mukazi we Efulaasa. Kuuli yazaala Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu. Saluma kitaawe wa Besirekemu, Kalefu kitaawe wa Besugaderi. Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu ye jjajja wa Kalowe, asibukamu ekimu eky'okubiri eky'Abamenukosi. Ebika by'Abakiriyasuyalimu byali: Abayisuli, n'Abapusi, n'Abasumasi, n'Abamisulayi. Mu abo mwe mwava Abazolasi, n'Abayesutawooli. Batabani ba Saluma be bano: Besirekemu, n'Abanetofa, Atulosubesuyowabu, n'ekitundu ky'Abamanakasi, n'Abazooli. Ebika by'abawandiisi abaabeeranga e Yabezi; Abatirasi, Abasimeyasi, Abasukasi. Abo be Bakeeni abaava ku Kammasi kitaawe w'ekika kya Lekabu. Bano be baana ba Dawudi beyazaalira e Kebbulooni nga bwe baddiriŋŋana: Amunoni omubereberye, omwana wa Akinoamu Omuyezuleeri; Danyeri ow'okubiri, omwana wa Abbigayiri Omukalumeeri; Abusaalomu ow'okusatu, omwana wa Maaka muwala wa Talumayi kabaka w'e Gesuli; Adoniya ow'okuna, omwana wa Kaggisi; Sefatiya ow'okutaano, omwana wa Abitali; Isuleyamu ow'omukaga, gwe yazaala mu Eggulaasi mukazi we. Be baana mukaaga beyazaalira e Kebbulooni; gye yafugira emyaka musanvu ne myezi mukaaga. Era yafugira e Yerusaalemi emyaka asatu mu esatu (33). Mu Yerusaalemi yazalirayo abaana bana mu Basuseba muwala wa Ammiyeri be bano: Simeeya, Sobabu, Nasani ne Sulemaani. N'abalala mwenda be bano: Ibukali, Erisaama, Erifereti; Noga, Nefegi, Yafiya; Erisaama, Eriyada ne Erifereti. Dawudi era yalina abaana ab'obulenzi mu bakazi abalala; ne mwannyinaabwe Tamali. Sulemaani yazaala Lekobowaamu, Lekobowaamu n'azaala Abiya, Abiya n'azaala Asa, Asa n'azaala Yekosafaati. Yekosafaati n'azaala Yolaamu, Yolaamu n'azaala Akaziya, Akaziya n'azaala Yowaasi; Yowaasi n'azaala Amaziya, Amaziya n'azaala Azaliya, Azaliya n'azaala Yosamu; Yosamu n'azaala Akazi, Akazi n'azaala Keezeekiya, Keezeekiya n'azaala Manase; Manase n'azaala Amoni, Amoni n'azaala Yosiya. Batabani ba Yosiya: omubereberye ye Yokanani, ow'okubiri Yekoyakimu, ow'okusatu Zeddekiya, ow'okuna Sallumu. Batabani ba Yekoyakimu: Yekoniya ne Zeddekiya. Bano be batabani ba Yekoniya eyatwalibwa e Babbulooni nga musibe: Seyalutyeri, Malukiramu, Pedaya, Senazzali, Yekamiya, Kosama ne Nedabiya. Batabani ba Pedaya: Zerubbaberi ne Simeeyi. Batabani ba Zerubbaberi: Mesullamu, Kananiya ne Seromisi mwannyinaabwe, n'abalala bataano: Kasuba ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya, ne Yusabukesedi. Batabani ba Kananiya: Peratiya ne Yesukaya. Yesukaya yazaala Lefaya, Lefaya n'azaala Alunani, Alunani n'azaala Obadiya, Obadiya n'azaala Sekaniya. Sekaniya yasibukamu abaana ab'obulenzi mukaaga: mutabani we Semaaya, ne batabani ba Semaaya oyo: Kattusi ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Batabani ba Neyaliya baali basatu: Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu. Batabani ba Eriwenayi baali musanvu: Kodaviya ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanani, ne Deraya, ne Anani. Bano be batabani ba Yuda; Pereezi, Kezulooni, Kalumi, Kuuli ne Sobali. Sobali n'azaala Leyaya; Leyaya n'azaala Yakasi; Yakasi n'azaala Akumayi ne Lakadi. Ezo ze nda omusibuka abatuuze be Zora. Etamu yazaala abaana ab'obulenzi basatu. Yezuleeri, Isuma ne Idubasi. Abo baalina mwannyinaabwe erinnya lye Kazzereruponi. Penueri ye kitaawe wa Gedoli, ne Ezeri ye kitaawe wa Kusa. Abo be batabani ba Kuuli omubereberye wa Efulaasa, kitaawe wa Besirekemu. Asukuli kitaawe wa Tekowa yalina abakazi babiri, Keera ne Naala. Naala n'amuzaalira Akuzzamu, Keferi, Temeni ne Kaakasutali. Ne batabani ba Keera be bano; Zeresi, Izukaali, ne Esunani. Kakkozi n'azaala Anubu, ne Zobeba, n'enda za Akalukeri mutabani wa Kalumu. Yabezi yali wa kitiibwa kinene okusinga baganda be: nnyina kyeyava amutuuma erinnya eryo kubanga yamuluma nnyo ng'amuzaala. Yabezi neyegayiriranga Katonda wa Isiraeri ng'asaba nti Singa ompeeredde ddala omukisa, n'ogaziya ensalo yange, n'ombeeranga n'onkuuma, buli kabi kaleme nga okuntukako! Awo Katonda n'amuwa kye yasaba. Kerubu muganda wa Suwa n'azaala Mekiri, Mekiri n'azaala Esutoni. Esutoni n'azaala Besulafa, ne Paseya, Tekina n'azaala Irunakasi. Abasibuka mwabo be batuuze be Leka. Batabani ba Kenazi; Osunieri ne Seraya: ne mutabani wa Osunieri ye Kasasi. Myonosaayi n'azaala Ofula: Seraya n'azaala Yowaabu kitaawe wa Gekalasimu; Yowaabu oyo yasibukamu bafundi ab'omu kiwonvu. Batabani ba Kalebu mutabani wa Yefune be bano: Iru, Era ne Kenazi; Era n'azaala Kenazi. Batabani ba Yekalereri be bano: Zifu, Zifa, Tiriya ne Asaleri. Batabani ba Ezula: Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni. Meredi yawasa Bisiya muwala w'e Misiri, ne bazaala omuwala Miryamu n'abalenzi babiri: Sammayi ne Isuba. Isiba oyo ye kitaawe wa Esutemoa. Meredi yawasa n'omukazi Omuyudaaya, ne bazaala abalenzi basatu: Yeredi kitaawe wa Gedoli, Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanowa. Kodiya yawasa mwannyina Nakamu. Batabani ba muka Kodiya oyo be basibukamu Keyira Omugalumi ne Esutemoa ow'e Maakasi. Batabani ba Simooni be bano: Amunoni, Linna, Benikanani ne Tironi. Batabani ba Isi be bano: Zokesi ne Benizokesi. Seera mutabani Yuda, yazaala Eri: Eri yazaala Leka ne Laada n'azaala Malesa n'ab'olulyo lwabo abaalukanga bafuta ennungi ab'ennyumba ya Asubeya. Yokimu n'abatuuze ab'e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga mu Mowaabu ne Yasubirekemu. Ebyo byabaawo dda nnyo. Abantu abo baali babumbi abakolera kabaka era nga babeera mu Netayimu ne mu Gedera. Bano be batabani ba Simyoni: Nemweri, Yanini, Yalibu ne Zeera. Sawuli n'azaala Sallumu; Sallumu n'azaala Mibusamu; Mibusamu n'azaala Misuma. Bano be batabani ba Misuma; Kammweri, Zakkuli ne Simeeyi; Simeeyi n'azaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga (16) n'ab'obuwala mukaaga; naye baganda be tebaazaala baana bangi, so n'ekika kyabwe kyonna tekyayala okwenkana abaana ba Yuda. Abasibuka mu Simyoni baasenga mu bibuga Beeruseba, Molada, Kazalusuali, Biruka, Ezemu, Toladi, Bessweri, Koluma ne Zikulagi, Besumalukabosi, Kazalususimu, Besubiri ne Saalayimu. Ebyo bye byali ebibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yafuuka kabaka. Era ebyalo byabwe byali Etamu, ne Ayini, Limmoni, ne Tokeni, ne Asani, byonna wamu bitaano, era n'ebitundu ebyetoolodde ebyalo ebyo okutuuka e Baali. Mu ebyo mwe baabeeranga. Bajjajjaabwe be bano: Mesobabu ne Yamuleki, ne Yosa mutabani wa Amaziya, ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, Yosibiya mutabani wa Seraya, Seraya mutabani wa Asyeri, ne Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya, ne Ziza mutabani wa Sifi, era muzzukulu wa Alloni. Alloni yali mutabani wa Yedaya era muzzukulu wa Simuli, Simuli mutabani wa Semaaya. Abo abamenyeddwa amannya baabanga bakulu mu bika byabwe: n'ennyumba za bajjajjaabwe ne zeyongera nnyo okwala. Ne bagenda awayingirirwa mu Gedoli, ku luuyi lw'ekiwonvu olw'ebuvanjuba, okunoonyeza ebisibo byabwe omuddo. Ne balaba omuddo omugimu omulungi, ensi yali ngazi era ng'eteredde mirembe; abatuuze baamu abaasooka bali basibuka mu Kaamu. Mu bufuzi bwa kabaka Keezeekiya owa Yuda, abo abamenyeddwa amannya baalumba eweema n'ensiisira z'abatuuze baayo n'ez'Abamewuni be baasangayo ne babasaanyizaawo ddala, ne basengayo mu kifo kyabwe, kubanga waaliyo omuddo ogw'okuliisa amagana gaabwe. Ebikumi bitaano (500) ku bo ne bagenda ku lusozi Seyiri, nga bakulemberwa Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya, ne Wuziyeeri mutabani wa Isi. Eyo ne battirayo Abamaleki abaali basigaddewo, ne basenga eyo n'okutuusa kati. Bano be batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri. Newakubadde Lewubeeni ono ye yali omubereberye, kyokka olw'okwebaka ne muka kitaawe, omugabo gwe ogw'okuba omubereberye gwamuggyibwako, ne guweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isiraeri. N'olwekyo ennyiriri z'obuzaale zaawandiikibwa nga tezigoberera eyasooka okuzaalibwa. Newakubadde eky'okuba omubereberye kyali kya Yusufu, kyokka Yuda ye yafuuka ow'amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava omukulembeze. Batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri be bano: Kanoki, Palu, Kezulooni ne Kalumi. Batabani ba Yoweeri: Semaaya eyazaala Gogi, Gogi n'azaala Simeeyi, Simeeyi n'azaala Mikka. Mikka ye azaala Leyaya, Leyaya n'azaala Baali, Baali n'azaala Beera, Kabaka Tirugasupiruneseri owa Bwasuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse. Beera oyo ye yali omukulembeze w'abasibuka mu Lewubeeni. Ennyiriri z'Abalewubeeni ziraga abakulembeze baabwe bano: Yeyeeri, Zekkaliya, ne Bera mutabani wa Azazi, Azazi mutabani wa Sema, Sema mutabani wa Yoweeri. Abasibuka mu Yoweeri oyo, baabeeranga mu Aloweri, okutuuka e Nebo ne Baalumyoni. Ebuvanjuba baali mu kitundu awatandikira eddungu, okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali mangi mu nsi y'e Gireyaadi. Mu mulembe gwa Sawulo, Abalewubeeni ne balwanyisa Abakaguli mu lutalo, ne babatta, ne babeeranga mu weema zaabwe mu kitundu kyonna ekiri ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Gireyaadi. Ab'ekika kya Gaadi, baasenga e bukiikakkono bw'Abalewubeeni mu Basani, okutuukira ddala e Saleka. Yoweeri ye yali omukulembeze waabwe, amuddirira nga ye Safamu, ne kuddako Yanayi ne Safati mu Basani. Ne baganda baabwe omusanvu abo mu nda za bajjajjaabwe; Mikayiri, Mesullamu, Seeba, Yolayi, Yakani, Ziya ne Eberi. Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, Kuuli mutabani wa Yalowa, Yalowa mutabani wa Gireyaadi, Gireyaadi mutabani wa Mikayiri, Mikayiri mutabani wa Yesisayi, Yesisayi mutabani wa Yakudo, Yakudo mutabani wa Buzi. Aki mutabani wa Abudyeri era muzzukulu wa Guni, ye yali omukulu w'ennyumba za bajjajjaabwe. Ne babeeranga mu Gireyaadi mu Basani, ne mu bibuga byako, ne mu byalo byonna ebiriraanye Saloni, okutuuka ku nsalo zaabyo. Abo bonna baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne ku mirembe gya Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri. Batabani ba Lewubeeni, n'aba Gaadi, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, eky'abasajja abazira, abasajja abaayinza okukwata engabo n'ekitala, n'okulasa n'emitego, era ab'amagezi okulwana, baali emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga (44,760), abaayinza okutabaala. Ne balwana n'Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi, ne Nodabu. Beesiga Mukama ne bamusaba abayambe era n'abayamba, Abakaguli ne bawangulwa wamu ne bonna abaali nabo. Ne banyaga ebisibo byabwe; ku ŋŋamira zaabwe emitwalo etaano (50,000), endiga obusiriivu bubiri mu emitwalo etaano (250,000), endogoyi enkumi bbiri (2,000) n'abantu akasiriivu kamu (100,000). Era batta bangi, kubanga Katonda ye yalwana olutalo olwo. Ne beefuga ebitundu ebyo okutuusa lwe bawaŋŋangusibwa. Ekitundu eky'ekika kya Manase ekyabeeranga obuvanjuba ne beeyongera obungi, ne babeeranga mu kitundu ky'ensi eyo okuva ku Basani okutuuka ku Baalukerumooni ne Seniri n'olusozi Kerumooni. Era bano be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe; Eferi, Isi, Eryeri, Azulyeri, Yeremiya, Kodaviya ne Yakudyeri, abasajja ab'amaanyi abazira, abaatiikirivu nga gy'emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe. Abantu ne basobya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bamuvaako ne basinza bakatonda b'amawanga ag'omu nsi omwo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. Katonda wa Isiraeri n'atabangula Puli kabaka w'e Bwasuli era ye Tirugasupiruneseri, n'abalumba, n'aggyayo ekika kya Lewubeeni, n'ekya Gaadi n'ekitundu ku kika kya Manase n'abatwala e Kala ne Kaboli, ne Kaala, n'eri omugga Gozani, ne leero. Batabani ba Leevi ye; Gerusoni, Kokasi, ne Merali. Batabani ba Kokasi ye; Amulaamu, Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri. Abaana ba Amulaamu ye; Alooni, Musa ne Miryamu. Batabani ba Alooni ye; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. Eriyazaali n'azaala Finekaasi, Finekaasi n'azaala Abisuwa; Abisuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Uzzi; Uzzi n'azaala Zerakiya, Zerakiya n'azaala Merayoosi; Merayoosi n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu; Akitubu n'azaala Zadoki, Zadoki n'azaala Akimaazi; Akimaazi n'azaala Azaliya, Azaliya n'azaala Yokanani; Yokanani n'azaala Azaliya eyakolanga omulimu ogw'obwakabona mu nnyumba Sulemaani gye yazimbira Mukama mu Yerusaalemi. Azaliya n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu; Akitubu n'azaala Zadoki, Zadoki n'azaala Sallumu; Sallumu n'azaala Kirukiya, Kirukiya n'azaala Azaliya; Azaliya n'azaala Seraya, Seraya n'azaala Yekozadaki; Yekozadaki n'atwalibwa nga musibe, Mukama bwe yatwalira ddala Yuda ne Yerusaalemi n'omukono gwa Nebukadduneeza. Batabani ba Leevi ye; Gerusomu, Kokasi, ne Merali. Batabani ba Gerusomu ye Libuni ne Simeeyi. Batabani ba Kokasi be bano; Amulaamu ne Izukali ne Kebbulooni ne Wuziyeeri. Batabani ba Merali ye; Makuli ne Musi. Olwo lwe lulyo lwa ba Leevi nga bajjajjaabwe bwe baddiriŋŋana. Bano be basibuka mu Gerusomu: Gerusomu yazaala Libuni, Libuni n'azaala Yakasi, Yakasi n'azaala Zimma. Zimma yazaala Yowa, Yowa n'azaala Iddo, Iddo n'azaala Zeera, Zeera n'azaala Yeaserayi. Bano be basibuka mu Kokasi: Kokasi yazaala Amminadaabu, Amminadaabu n'azaala Koola, Koola n'azaala Assiri. Assiri yazaala Erukaana, Erukaana n'azaala Ebiyasaafu, Ebiyasaafu n'azaala Assiri, Assiri n'azaala Takasi, Takasi n'azaala Uliyeri, Uliyeri n'azaala Uzziya, Uzziya n'azaala Sawuli. Abasibuka mu Erukaana be bano: Erukaana yazaala Amasayi ne Akimosi, Akimosi n'azaala Erukaana, Erukaana n'azaala Zofayi, Zofayi n'azaala Nakasi, Nakasi n'azaala Eriyaabu, Eriyaabu n'azaala Yerokamu, Yerokamu n'azaala Erukaana. Samwiri yazaala abaana babiri (2): Yoweeri ye mubereberye we, ow'okubiri ye Abiya. Bano basibuka mu Merali: Merali yazaala Makuli, Makuli n'azaala Libuni, Libuni n'azaala Simeeyi, Simeeyi n'azaala Uzza. Uzza yazaala Simeeya, Simeeya n'azaala Kaggiya, Kaggiya n'azaala Asaya. Waliwo abantu Kabaka Dawudi be yalonda okukulira eby'okuyimba mu Yeekaalu ye Yerusaalemi, essanduuko y'endagaano ya Mukama bwe yamala okuyingizibwa mu Yeekaalu eyo. Baweerezanga mu mpalo mu weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, nga bayimba, okutuusa kabaka Sulemaani bwe yamala okuzimba Yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bano be baaweerezanga ne batabani baabwe. Okuva mu ba Kokasi, waaliwo Kemani omukulu w'abayimbi, mutabani wa Yoweeri, Yoweeri mutabani wa Samwiri, Samwiri mutabani wa Erukaana, Erukaana mutabani wa Yerokamu, Yerokamu mutabani wa Eriyeri, Eriyeri mutabani wa Toowa, Toowa mutabani wa Zufu, Zufu mutabani wa Erukaana, Erukaana mutabani wa Makasi, Makasi mutabani wa Amasayi, Amasayi mutabani wa Erukaana, Erukaana mutabani wa Yoweeri, Yoweeri mutabani wa Azaliya, Azaliya mutabani wa Zeffaniya, Zeffaniya mutabani wa Takasi, Takasi mutabani wa Assiri, Assiri mutabani wa Ebiyasaafu, Ebiyasaafu mutabani wa Koola, Koola mutabani wa Izukali, Izukali mutabani wa Kokasi, Kokasi mutabani wa Leevi, Leevi mutabani wa Isiraeri. Munne wa Kemani era eyamuyimiriranga ku mukono ogwa ddyo, yali Asafu mutabani wa Berekiya, Berekiya mutabani wa Simeeya, Simeeya mutabani wa Mikayiri, Mikayiri mutabani wa Baaseya, Baaseya mutabani wa Malukiya, Malukiya mutabani wa Esuni, Esuni mutabani wa Zeera, Zeera mutabani wa Adaaya, Adaaya mutabani wa Esani, Esani mutabani wa Zimma, Zimma mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Yakasi, Yakasi mutabani wa Gerusomu, Gerusomu mutabani wa Leevi. N'oyo eyayimiriranga ku gwa kkono gwa Kemani ne Asafu, yali ava mu basibuka mu Merali, nga ye Esani mutabani wa Kiisi, Kiisi mutabani wa Abudi, Abudi mutabani wa Malluki, Malluki mutabani wa Kasukabiya, Kasukabiya mutabani wa Amaziya, Amaziya mutabani wa Kirukiya, Kirukiya mutabani wa Amuzi, Amuzi mutabani wa Bani, Bani mutabani wa Semeri, Semeri mutabani wa Makuli, Makuli mutabani wa Musi, Musi mutabani wa Merali, Merali mutabani wa Leevi. Baleevi bannaabwe abalala bonna ne baweebwa emirimu emirala gyonna, eby'omu Yeekaalu. Naye Alooni n'abasibuka mu ye, ne bawangaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyabyo era ne booterezanga obubaane, olw'omulimu gwonna ogw'omu kifo ekitukuvu ennyo, n'okutangiriranga Isiraeri, nga byonna bwe biri Musa omuddu wa Katonda bye yalagira. Era bano be basibuka mu Alooni: Alooni yazaala Eriyazaali, Eriyazaali n'azaala Finekaasi, Finekaasi n'azaala Abisuwa, Abisuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Uzzi, Uzzi n'azaala Zerakiya, Zerakiya n'azaala Merayoosi, Merayoosi n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu, Akitubu n'azaala Zadoki, Zadoki n'azaala Akimaazi. Bino bye bifo ab'olulyo lwa Alooni bye baweebwa okubeeramu. Akalulu kasooka kuggwa ku ba Kokasi, ne baweebwa ekitundu kyabwe; ne baweebwa Kebbulooni ekiri mu Yuda, n'amalundiro agakyetoolodde: naye Kalebu mutabani wa Yefune ye n'aweebwa ennimiro zaakyo ne byalo byakwo. Era abasibuka mu Alooni ne baweebwa ebibuga eby'okuddukiramu, Kebbulooni, Libuna n'amalundiro gaakyo, Yattiri ne Esutemoa n'amalundiro gaabyo Kireni n'amalundiro gakyo, Debiri n'amalundiro gakyo, Asani n'amalundiro gakyo ne Besusemesi n'amalundiro gakyo. Mu kitundu ekyagabanibwa ekika kya Benyamini, Abaleevi ne baweebwa ebibuga bino: Geba n'amalundiro gakyo, ne Allemesi n'amalundiro gakyo, ne Anasosi n'amalundiro gakyo. Ebibuga byabwe byonna ebyaweebwa ab'ennyumba zaabwe zonna, byali kkumi na bisatu (13). Ebibuga kkumi mu kitundu kya Manase eky'ebugwanjuba byakubwako akalulu ne biweebwa Abakokasi abalala. Ne batabani ba Gerusomu ng'enda zaabwe bwe zaali ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu (13), ebyaggibwa ku kika kya Isakaali ne ku kika kya Aseri ne ku kika kya Nafutaali ne ku kika kya Manase mu Basani. Batabani ba Merali ne baweebwa n'obululu ng'enda zaabwe bwe zaali ebibuga kkumi na bibiri (12), ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni ne ku kika kya Gaadi ne ku kika kya Zebbulooni. Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi ebibuga n'amalundiro gaabyo. Ebibuga ebimenyeddwa amannya ebyaggyibwa ku b'ekika kya Yuda ne ku b'ekika kya Simyoni, ne ku b'ekika Benyamini byagabirwa Abaleevi nga bikubirwa kalulu. Era enda ezimu ez'oku batabani ba Kokasi baalina ebibuga eby'okunsalo zaabwe ebyaggibwa ku kika kya Efulayimu. Ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'amalundiro gakyo: ne Gezeri n'ebyalo byako; Yokumyamu, Besukolooni n'amalundiro gaabyo; Ayalooni, Gasulimmoni n'amalundiro gaabyo; n'ebyaggibwa ku kitundu ky'ekika kya Manase; Aneri n'amalundiro gakyo, Biryamu n'amalundiro gakyo, ne biweebwa abaana ba Kokasi abaali basigaddewo nga tebanafuna. Abasibuka mu Gerusomu ne baweebwa ebibuga bino: ebyaggibwa mu kitundu eky'ebuvanjuba ekyaweebwa ekika kya Manase: Golani eky'omu Basani, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Asutaloosi n'amalundiro gaakyo; n'ebyaggibwa ku kika kya Isakaali; Kedesi n'amalundiro gakyo, Daberasi n'amalundiro gakyo; Lamosi n'amalundiro gakyo, Anemu n'amalundiro gakyo; ne mu kika kya Aseri; Masali n'amalundiro gakyo, ne Abudoni n'amalundiro gakyo; Kukoki n'amalundiro gakyo, Lekobu n'amalundiro gakyo: ne mu kika kya Nafutaali; Kedesi eky'omu Ggaliraaya n'amalundiro gakyo, Kammoni n'amalundiro gakyo, ne Kiriyasayimu n'amalundiro gakyo. Abaleevi abasigaddewo, batabani ba Merali, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Zebbulooni, Limmono n'amalundiro gakyo, Taboli n'amalundiro gakyo: era emitala wa Yoludaani e Yeriko, ku luuyi lwa Yoludaani olw'ebuvanjuba, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni, Bezeri ekiri mu ddungu n'amalundiro gakyo, ne Yaza n'amalundiro gakyo, Kedemosi n'amalundiro gakyo, ne Mefaasi n'amalundiro gakyo: n'ebyaggibwa ku kika kya Gaadi; Lamosi ekiri mu Gireyaadi n'amalundiro gakyo, ne Makanayimu n'amalundiro gakyo, Kesuboni n'amalundiro gakyo, ne Yazeri n'amalundiro gakyo. Batabani ba Isakaali baali bana (4) be bano: Tola, Puwa, Yasubu, ne Simuloni. Batabani ba Tola be bano: Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri; abo be baali abakulu b'ennyumba zabwe abasibuka mu Tola; bali basajja abazira, ab'amaanyi mu mirembe gyabwe. Ku mulembe gwa Dawudi abamusibukamu bali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga (22,600). Uzzi yazaala omwana omu ye Izulakiya: Izulakiya yazaala abaana bana be bano: Mikayiri, Obadiya, Yoweeri, Issiya; abo bali bakulu b'ennyumba zabwe. Baawasa abakazi bangi era baazaala abaana bangi, abasibuka mu bo ne basobola okuvaamu egye ly'abaserikale emitwalo esatu mu kakaaga (36,000). Bonna abasibuka mu Isakaali abasajja abamaanyi abazira baali emitwalo munaana mu kasanvu (87,000). Batabani ba Benyamini baali basatu (3) be bano: Bera, Bekeri, ne Yediyayeri. Batabani ba Bera be bano: Ezuboni, Uzzi, Wuziyeeri, Yerimoosi ne Iri bali bakulu be nnyumba mu kika kyabwe, bali basajja abamaanyi abazira. Abamusibukamu baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu asatu mu bana (22,034), abasobola okulwana mu lutalo. Batabani ba Bekeri be bano: Zemira, Yowaasi, Eryeza, Eriwenayi, Omuli, Yeremoosi, Abiya, Anasosi ne Alemesi. Baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nga bwe baaliraana, bali bakulu b'ennyumba zabwe mu kika kyabwe, abasajja ab'amaanyi abazira. Abamusibukamu abali basobola okulwana baali emitwalo ebiri mu bibiri (20,200). Yediyayeri yazaala omwana omu ye Birukani, batabani ba Birukani be bano: Yewusi, Benyamini, Ekudi, Kenaana, Zesani, Talusiisi ne Akisakali. Abo bonna abasibuka mu Yediyayeri bali bakulu mu nnyumba zabwe mu kika kyabwe, bali basajja bazira ab'amaanyi. Abamusibukamu abasajja abalwanyi bali omutwalo gumu mu kasanvu mu bibiri (17,200). Batabani ba Iri bali Kuppimu ne Suppimu, ne mutabani wa Akeri yali Kusimu. Batabani ba Nafutaali baali bana (4) be bano: Yaziyeri, Guni, Yazeri ne Sallumu baali bazzukulu ba Biruka. Manase yalina omukazi Omusuuli, eyamuzaalira Asuliyeri, ne Makiri kitaawe wa Gireyaadi. Makiri n'awasa omukazi mwannyina Kuppimu ne Suppimu, erinnya lye Maaka. Omwana ow'obulenzi ow'okubiri owa Makiri yali Zerofekadi. Zerofekadi oyo yazaala abaana ba buwala bokka. Maaka muka Makiri n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Peresi. Ne muganda w'oyo yali Seresi. Batabani ba Peresi: Ulamu ne Lakemu. Ulamu yazaala Bedani. Abo be basibuka mu Gireyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manase. Gireyaadi yalina mwannyina erinnya lye Kammolekesi eyazaala Isukodi, Abiezeri ne Makula. Batabani ba Semida be bano: Akyani, Sekemu, Liki ne Aniyamu. Efulayimu yazaala Susera, Susera n'azaala Beredi, Beredi n'azaala Takasi, Takasi n'azaala Ereyadda, Ereyadda n'azaala Takasi, Takasi n'azaala Zabadi, Zabadi n'azaala Susera. Efulayimu era yalina batabani abalala babiri: Ezeri ne Ereyaddi abattibwa abasajja ab'e Gaasi bwe bali bagenze okunyaga ente ez'abazaliranwa be nsi eyo. Efulayimu kitaabwe n'akungubagira ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza. Efulayimu neyeegatta ne mukazi we n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab'omu nnyumba ye baalaba akabi. Ne muwala we yali Seera, n'azimba ebibuga Besukolooni ekya wansi n'eky'engulu, ne Uzzenuseera. Efulayimu era yalina mutabani we omulala, erinnya lye Leefa. Leefa oyo yazaala Lesefu, Lesefu n'azaala Teera, Teera n'azaala Takani, Takani n'azaala Ladani, Ladani n'azaala Ammikudi, Ammikudi n'azaala Erisaama, Erisaama n'azaala Nuuni, Nuuni n'azaala Yoswa. Ebifo bye baweebwa era bye baatulangamu bye bino: Beseri n'ebibuga byako, n'ebuvanjuba Naalani, n'ebugwanjuba Gezeri, n'ebibuga byako; era ne Sekemu n'ebibuga byako, okutuusa ku Azza n'ebibuga byako: n'awali ensalo ez'abaana ba Manase, Besuseyani n'ebibuga byako, Taanaki n'ebibuga byako, Megiddo n'ebibuga byako, Doli n'ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga. Batabani ba Aseri be bano: Imuna, Isuva, Isuvi, Beriya; ne Seera mwannyinaabwe. Batabani ba Beriya be bano: Keberi ne Malukiyeeri, Malukiyeeri ye kitaawe wa Biruzayisi. Keberi n'azaala Yafuleti, Somera, Kosamu ne Suwa, mwannyinaabwe. Batabani ba Yafuleti be bano: Pasaki, Bimukali ne Asuvasi. Batabani ba Semeri be bano: Aki, Loga, Yekubba, ne Alamu. Batabani ba Keremu muganda we be bano: Zofa, Imuna, Seresi ne Amali. Batabani ba Zofa be bano: Suwa, Kaluneferi, Swali, Beeri ne Imula; Bezeri, Kodi, Samma, Sirusa, Isulani ne Beera. Batabani ba Yeseri be bano: Yefune, Pisupa ne Ala. Batabani ba Ulla be bano: Ala, Kanyeri ne Liziya. Abo bonna be basibuka mu Aseri, baali bakulu ba nnyumba zabwe mu kika kyabwe, abasajja abazira, abalonde ab'amaanyi nga bakulembeze batutumufu. Baalimu abasajja abasobola okulwana mu lutalo emitwalo ebiri mu kakaaga (26,000). Batabani ba Benyamini be yazaala abataano nga bwebaddiŋŋanako be bano: Bera, Asuberi, Akala; Noka ne Lafa. Batabani ba Bera be bano: Addali, Gera, Abikudi; Abisuwa, Naamani, Akowa; Gera, Sefufani ne Kulamu. Batabani ba Ekudi be baali abakulu b'ennyumba z'abantu abali e Geba be batwala e Manakasi nga basibe. Ne Naamani ne Akiya ne Gera n'abatwala nga basibe; n'azaala Uzza ne Akikudi. Sakalayimu yazaala abaana ab'obulenzi bwe yamala okugoba abakazi be Kusimu ne Baala. N'awasa Kodesi ne bazaala Yobabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu; ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma. Abo be baali abakulu b'ennyumba zabwe mu kika kyabwe. Kusimu yali azaalidde Sakalayi mu abaana Abitubu ne Erupaali. Batabani ba Erupaali bali basatu be bano: Eberi, Misamu ne Semedi. Semedi ye yazimba ebibuga Ono ne Loodi n'obubuga obubyetoolodde. Beriya ne Sema be baali abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abantu b'e Ayalooni. Abo baagenda e Gaasi ne bagobayo abatuuze baayo. Mu basibuka mu Beriya, mwe mwali Akiyo, Sasaki, ne Yeremoosi, ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi, ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka. Batabani ba Erupaali: Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi. ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu, batabani ba Erupaali; Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi, ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri, ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi baali batabani ba Simeeyi. Isupani, ne Eberi, ne Eryeri, ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani, ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya, ne Ifudeya, ne Penueri, batabani ba Sasaki. Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya, ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli, bonna basibuka mu Yerokamu. Abo be baali abakulu b'ennyumba zabwe mu kika kyabwe, ng'emirembe bwe gy'agenda giddiriŋŋana era baabeeranga mu Yerusaalemi. Kitaawe wa Gibyoni yabeeranga Gibyoni, era mukazi we yali ayitibwa Maaka. Batabani be baali Abudoni omubereberye, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Nadabu, ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri, ne Mikuloosi kitaawe wa Simeeya. Abo nabo baabeeranga mu Yerusaalemi wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala. Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu, ne Esubaali. Era Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n'azaala Mikka. Ne batabani ba Mikka bali; Pisoni, Mereki, Taleya ne Akazi. Akazi n'azaala Yekoyaada; Yekoyaada n'azaala Alemesi, Azumavesi ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza: ne Moza n'azaala Bineya; Bineya n'azaala Lafa, Lafa n'azaala Ereyasa, Ereyasa n'azaala Azeri: Azeri n'azaala abaana mukaaga be bano; Azulikamu, Bokeru, Isimaeri, Seyaliya, Obadiya ne Kanani. Batabani ba Eseki muganda wa Aseri be bano nga bwe baddiriŋŋana; Ulamu, Yewusi ne Erifereti. Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab'amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n'abazzukulu, kikumi mu ataano (150). Abo bonna baali ba Benyamini. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne bawandiikibwa amannya mu nkalala eziraga obuzaale bwabwe. Enkalala ezo neziwandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri. Era Yuda yaatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babbulooni olw'obutaba beesigwa. Abantu abaasooka okukomawo mu bifo byabwe ne mu bibuga byabwe be bano: Abaisiraeri aba bulijjo, bakabona, Abaleevi, n'abaweereza ab'omu Yeekaalu. Abatuula mu Yerusaalemi mwalimu abamu abaava mu bika bino: ekya Yuda, ekya Benyamini, n'ekya Manase; era ne bano Usayi mutabani wa Ammikudi era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Omuli, ne Imuli, ne Bani, ne Pereezi mutabani wa Yuda; Abasibuka mu Seera mutabani wa Yuda mwalimu Asaya omubereberye we ne batabani be. Ku batabani ba Zeera era mutabani wa Yuda: Yeweri ne baganda be, bonna awamu abantu lukaaga mu kyenda (690). Ku basibuka mu Benyamini: Sallu mutabani wa Mesullamu, era muzzukulu wa Kodaviya mutabani wa Kassenuwa; Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi era muzzukulu wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya era muzzukulu wa Leweri, mutabani wa Ibuniya. Abasajja Ababenyamini bonna awamu, baali lwenda mu ataano mu mukaaga (956). Abo bonna baali bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe. Bano be bakabona abaabeeranga mu Yerusaalemi: Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini, ne Azaliya mutabani wa Kirukiya era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Mesullamu, Zadoki, Merayoosi ne Akituubu eyalabiriranga Yeekaalu. Bakabona abalala baali: Adaaya mutabani wa Yerokamu, Yerokamu mutabani wa Pasukuli, Pasukuli mutabani wa Malukiya; ne Maasayi mutabani wa Adyeri era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Yazera, Mesullamu, Mesiremisi ne Immeri. Bakabona abo baali bakulu mu nnyumba za bajjajjaabwe, era wamu ne baganda baabwe, baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga (1,760). Baali basobolera ddala okukola obulungi emirimu gyonna egy'omu Yeekaalu. Bano be Baleevi, abaabeeranga mu Yerusaalemi: Semaaya mutabani wa Kassubu, Kassubu mutabani wa Azulikamu, Azulikamu mutabani wa Kasabiya asibuka mu Merali: ne Bakubakkali, Keresi, ne Galali, ne Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka mutabani wa Zikuli, Zikuli mutabani wa Asafu; ne Obadiya mutabani wa Semaaya era muzzukulu wa Galali, Galali mutabani wa Yedusuni, ne Berekiya mutabani wa Asa era muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo by'Abanetofa. Abaggazi: Sallumu, ne Akkubu, ne Talumooni, ne Akimani, ne baganda baabwe. Sallumu ye yali abakulira. Abo be baggazi abaakumanga omulyango ogw'ebuvanjuba ogwayitibwanga Omulyango gwa Kabaka. Era be baali abaggazi ku miryango egyayingiranga mu buli lusiisira lw'Abaleevi. Sallumu mutabani wa Koole, era muzzukulu wa Ebiyasaafu mutabani wa Koola, wamu n'ab'olulyo lwe abasibuka mu jjajjaabwe Koola, be baalabiriranga omulimu gw'obuweereza, nga be baggazi b'emiryango gy'eweema, nga bajjajjaabe bwe baalabiriranga olusiisira lwa Mukama nga be bakuumi b'omulyago. Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi abo mu biseera eby'edda, Mukama ng'ali naye. Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi w'omulyango oguyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu. Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi b'emiryango, baali bibiri mu kkumi na babiri (212). Bawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku buzaale bwabwe mu byalo byabwe gye baabeeranga. Abo be bantu kabaka Dawudi na nnabbi Samwiri be baalonda okukolanga omulimu ogwo ogwateekebwawo. Abantu abo wamu ne bazzukulu baabwe ne babeeranga abaggazi b'emiryango gya Yeekaalu mu mpalo. Abaggazi abo baabeeranga ku njuyi zonna eza Yeekaalu: ebuvanjuba, n'ebugwanjuba, n'ebukiikakkono, n'ebukiikaddyo. Ab'eŋŋanda zaabwe abaabeeranga mu byalo, bajjanga ne babayamba mu mpalo ku mulimu ogw'obuggazi, okumala ennaku musanvu musanvu. Omulimu guno ogwateekebwawo gwaliko abaggazi abakulu bana Abaleevi, era be baalabiriranga ebisenge n'amawanika eby'oku Yeekaalu. Baasulanga awo nga beetoolodde Yeekaalu, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okugikuuma, n'okugiggulangawo buli nkya. Abamu ku Baleevi bakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu ebikozesebwa mu kusinza, kubanga byabalibwanga nga bitwalibwa okukozesebwa, era ne bibalibwanga nga nga babikomezzaawo okubitereka. Abalala ne bakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu byonna ebikozesebwa mu watukuvu, obutta obulungi, omwenge, amafuta, omugavu, n'eby'akaloosa. Era abamu ku baana ba bakabona be baatabulanga eby'akaloosa. Ne Mattisiya, omu ku Baleevi, omubereberye wa Sallumu asibuka mu Koora, ye yakolanga omulimu ogwateekebwawo ogw'okufumba obugaati obw'empewere. Abamu ku baganda baabwe ab'olulyo lwa Kokasi, be baateekateekanga emigaati emitukuvu egiweebwayo eri Katonda egyateekebwanga ku mmeeza buli Ssabbiiti. N'abamu ku Baleevi baali bayimbi era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe. Baasulanga mu bisenge by'oku Yeekaalu, era tebaaweebwa mulimu mulala gwonna, kubanga omulimu ogwabwe baagukolanga emisana n'ekiro. Abo baali bakulu ba ennyumba za bajjajjaabwe mu lulyo lw'Abaleevi, mu nnyiriri z'obuzaale bwabwe. Baali bakulembeze, era baabeeranga Yerusaalemi. Yeyeeri kitaawe wa Gibyoni yabeeranga mu Gibyoni. Erinnya lya mukazi we, nga ye Maaka. Mutabani wa Yeyeeri omubereberye ye Abudoni, Zuuli, Kiisi, Baali, Neeri, Nadabu; Gedoli, Akiyo, Zekkaliya ne Mikuloosi. Mikuloosi n'azaala Simyamu. Abo nabo babeeranga mu Yerusaalemi wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala. Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala abaana be bano: Yonasaani, Malukisuwa, Abinadaabu ne Esubaali. Ne Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n'azaala Mikka. Batabani ba Mikka baali: Pisoni, Mereki, Taleya ne Akazi. Akazi n'azaala Yala; Yala n'azaala abaana basatu be bano: Alemesi, Azumavesi ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza; Moza n'azaala Bineya, Bineya n'azaala Lefaya, Lefaya n'azaala Ereyaasa, Ereyaasa n'azaala Azeri. Azeri n'azaala batabani be mukaaga be bano: Azulikamu, Bokeru, Isimaeri, Seyaliya, Obadiya ne Kanani. Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri ku lusozi Girubowa. Abaisiraeri bangi ne battibwa, abasigalawo nga mwe muli ne kabaka Sawulo ne batabani be ne badduka. Abafirisuuti ne bawondera Sawulo ne batabani be, ne batta batabani be abasatu: Yonasaani, Abinadaabu ne Malukisuwa. Olutalo neruba lwa maanyi nnyo awaali Sawulo. Abalasi ne bamulasa obusaale n'alumizibwa nnyo. Awo Sawulo n'agamba oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumite onzitte; abatali bakomole abo baleme okujja ne banswaza. Naye eyasitulanga eby'okulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akyetungako naafa. Awo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye kyeyava addira ekitala kye n'akyetungako n'afa. Sawulo n'afa bw'atyo ne batabani be bonsatule; n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu. Abaisiraeri abaali mu kiwonvu bwe baalaba ng'eggye lya Isiraeri lidduse era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. Awo olwatuuka ku lunaku olwaddirira, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiridde ku lusozi Girubowa. Sawulo ne bamwambula, ne bamutemako omutwe, ne bagutwala awamu n'eby'okulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafirisuuti, okutuusaayo amawulire ago, eri ebifaananyi bye basinza, ne mu bantu. Ne bateeka eby'okulwanyisa bye mu ssabo lya bakatonda baabwe, ne basimba omutwe gwe mu ssabo lya Dagoni. Awo ab'e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye bakoze Sawulo, abazira bonna ne bagolokoka ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne baziika amagumba gaabwe wansi w'omwera e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu. Bw'atyo Sawulo n'afa olw'okusobya kwe, kwe yasobya Mukama, olw'ekigambo kya Mukama ky'ataakwata; n'okugenda okwebuuza ku mukazi eyaliko omuzimu, n'atebuuza eri Mukama: Mukama kyeyava amutta, n'akyusa obwakabaka n'abuwa Dawudi mutabani wa Yese. Awo Abaisiraeri bonna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti: Tuli baganda bo ddala. Mu biro eby'edda Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wakulemberanga Isiraeri mu ntabaalo. Mukama Katonda wo n'akugamba nti Ggwe olikulembera abantu bange Abaisiraeri, era ggwe oliba omufuzi waabwe. Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; Dawudi n'alagaana nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bafuka ku Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kyogera nga ayita mu nnabbi Samwiri. Awo Dawudi ne Isiraeri yenna ne bagenda ne balumba Yerusaalemi, mu biseera ebyo kyayitibwanga Yebusi; nga abatuuze ab'omukibuga ekyo bayitibwa ba Yebusi. Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti Tojja kuyingira muno. Naye Dawudi n'awamba ekigo ekyo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi. Dawudi n'ayogera nti Buli anaasooka okugoba Abayebusi ye aliba omukulu era omwami. Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'asooka okulumba, n'afuuka mukulu. Dawudi n'abeera mu kigo; kyebaava bakiyita ekibuga kya Dawudi. Dawudi n'azimba ekibuga enjuyi zonna ng'atandikira e Miiro. Yowaabu n'addaabiriza ebitundu by'ekibuga ebyasigalawo. Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba ow'amaanyi; kubanga Mukama ow'eggye ng'ali naye. Bano be baali abakulu, abasajja ab'amaanyi, abazira Dawudi be yalina. Nga bali wamu n'Abaisiraeri bonna, baamuyamba okufuuka kabaka, nga Mukama bwe yagamba ku ggwanga lya Isiraeri, era be baakuuma obwakabaka bwe nga bwa maanyi. Abasajja abo abamaanyi, abazira Dawudi be yalina be bano: Yasobeyamu, omwana w'Omukakumoni, omukulu w'abasatu: olumu yakwata effumu lye n'atta abasajja bisatu (300) mu lutalo lumu. Ow'okubiri ku basajja abamaanyi abazira abasatu ye Eriyazaali mutabani wa Dodo, ow'omukika kya Akowa. Oyo yali wamu ne Dawudi e Pasudammimu, era Abafirisuuti bwe bakuŋŋaanira eyo okulwana mu musiri gwa sayiri; abantu ne badduka Abafirisuuti. Naye Dawudi ne Eriyazaali ne bayimirira wakati mu Musiri ne bagulwanirira, ne batta Abafirisuuti; Mukama n'abawa obuwanguzi obw'amaanyi. Awo abasatu ku bakulu asatu (30) ne baserengeta, ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adulamu, eggye ly'Abafirisuuti nga lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu. Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo ekigumu, ate Abafirisuuti ng'enkambi yaabwe bagikubye Besirekemu. Dawudi ne yeegomba n'agamba nti Kale singa wabaddewo anandeetera amazzi ag'okunywa agava ku luzzi olw'e Besirekemu, oluli okumpi ne wankaaki. Awo abo abasatu ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu oluliraanye omulyango ogwa wankaaki, ne bagaletera Dawudi. Kyokka Dawudi n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama, n'agamba nti Katonda wange aleme kunzikiriza kunywa mazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima. Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo bye by'obuzira abasajja abasatu abo ab'amaanyi bye baakola. Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu: olumu yakwata effumu lye n'alwanyisa abasajja bisatu (300) n'abatta, n'ayatiikirira ku basatu. Ku basatu abo, yali waakitiibwa n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye. Benaya ow'e Kabuzeeri mutabani wa Yekoyaada naye yali musajja muzira, eyakola ebikolwa eby'obuzira bwe yatta batabani ba Alyeri Omumowaabu ababiri era n'akka mu bunnya n'atta empologoma mu biro eby'omuzira. Era n'atta Omumisiri, omusajja omuwanvu ennyo, eyali aweza emikono etaano obuwanvu; nga akutte mu ngalo ze effumu eryali ng'omuti ogulukirwako engoye; Benaya yagenda gy'ali ng'alina muggo gwokka, n'amusikako effumu lye n'alimufumisa n'amutta. Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, n'ayatiikirira ku basajja abo ab'amaanyi abasatu. Kale yalina ekitiibwa okusinga abo asatu (30), kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be. Abasajja abalala ab'amaanyi mu ab'omu ggye be bano: Asakeri muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo ow'e Besirekemu. Sammosi Omukalooli, Kerezi Omuperoni; Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, Abiyezeeri Omwanasosi; Sibbekayi Omukusasi, Irayi Omwakowa; Makalayi Omunetofa; Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa; Isayi mutabani wa Libayi ow'e Gibeya eky'Ababenyamini. Benaya Omupirasoni; Kulayi ow'oku bugga bw'e Gaasi, Abyeri Omwaluba; Azimavesi Omubakalumi, Eriyaba Omusaaluboni. Batabani ba Kasemu Omugizoni, Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali. Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, Erifali mutabani wa Uli; Keferi Omumekera, Akiya Omuperoni; Kezulo Omukalumeeri, Naalayi mutabani wa Ezubayi; Yoweeri muganda wa Nasani, Mibukali mutabani wa Kaguli; Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, eyakwatanga eby'okulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya. Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli; Uliya Omukiiti, Zabadi mutabani wa Akulayi; Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni era omukulembeze w'Abalewubeeni wamu n'ekibinja eky'asatu (30). Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafati Omumisuni; Uzziya Omwasutaloosi, Sama ne Yeyeeri batabani ba Kosamu Omwaloweri; Yediyayeri, ne Yoka batabani wa Simuli, ow'e Tiizi; Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi, ne Yosaviya, batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu; Eryeri ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba. Dawudi bwe yali e Zikulagi ng'akyekwese kabaka Sawulo mutabani wa Kiisi, bano be bajja gy'ali ne bamwegattako, era be bamu ku batabaazi abaamuyambanga mu ntalo ze yalwananga. Baali ba mu kika kya Benyamini nga Sawulo bwe yali. Baakwatanga emitego gy'obusaale n'envuumuulo, nga basobola bulungi okulasa obusaale n'okuvuumuula amayinja nga bakozesa omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono. Baali bakulirwa Akiyezeeri, ng'addirirwa Yowaasi, bombi abo nga batabani ba Semaa ow'e Gibeya. Abasserikale abo be bano: Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi, Beraka ne Yeeku ow'e Anasosi. Isumaya Omugibyoni, omusajja ow'amaanyi mu abo asatu (30) era omukulembeze waabwe. Yeremiya ne Yakaziyeeri, ne Yokanani, ne Yozabadi ow'e Gederi; Eruzayi ne Yerimoosi, ne Beyaliya ne Semaliya, ne Sefatiya ow'e Kalufu. Erukaana ne Issiya, ne Azaleeri ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu abasibuka mu Koola. Yowera ne Zebadiya, batabani ba Yerokamu ow'e Gedoli. Mu kika kya Gaadi mwavaamu abasajja abaagoberera Dawudi mu ddungu gye yali akoze ekifo ekigumu, abasajja ab'amaanyi abazira, abaayigirizibwa okulwanyisa engabo n'amafumu, abatunuza obukambwe nga empologoma, abasobola okudduka nga empeewo z'okunsozi; abakulira yali Ezeri, amuddirira Obadiya, ow'okusatu Eriyaabu, ow'okuna Misumanna, ow'okutaano Yeremiya, ow'omukaga Attayi, ow'omusanvu Eriyeri, ow'omunaana Yokanani, ow'omwenda Eruzabadi; ow'ekkumi Yeremiya, n'ow'ekkumi n'omu Makubannayi. Ab'omu kika kya Gaadi abo, be baali abakulu mu ggye, nga mu bo ow'amaanyi amatono asobola okulwanyisa abantu kikumi (100), ate asinga okuba ow'amaanyi, ng'asobola okulwanyisa abantu lukumi (1,000). Abo be baasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogusooka mu mwaka, mu kiseera omugga ogwo mwe gwanjaalira ku mbalama zaagwo zonna, ne bagoba abatuuze bonna ab'omu biwonvu ne babasaasaanyiza ebuvanjuba era n'ebugwanjuba w'omugga. Awo ab'omu kika kya Benyamini n'ekya Yuda ne bagenda eri Dawudi mu ddungu eyali ekigo kye ekigumu. Dawudi n'avaayo okubasisinkana, n'abagamba nti, “Oba nga muzze lwa bulungi gye ndi okunnyamba, mbaanirizza. Naye oba nga muzze kundyamu lukwe mumpeeyo eri abalabe bange nga tewali kabi ke nkoze, Katonda wa bajjajjaffe, akirabe ababonereze.” Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Amasayi, omukulu wa bali asatu (30), n'agamba nti Tuli babo, Dawudi. Tuli ku ludda lwo, mutabani wa Yese! Mirembe, emirembe gibe naawe. Era gibe n'abo abakuyamba. Kubanga Katonda wo ye muyambi wo. Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula bakulu mu ggye lye. Abaava mu kika kya Manase ne begatta ku Dawudi bwe yali nga agenda n'Abafirisuuti okulwanyisa Sawulo; Abafirisuuti ne bamugoba nga batya nti ayinza okubalyamu olukwe n'abawaayo eri Sawulo ne babatemako emitwe. Ku b'ekika kya Manase abeegatta ku Dawudi bwe yali nga agenda e Zikulagi be bano: Aduna, Yozabadi, Yediyayaeri, Mikayiri, Yozabadi, Eriku ne Zirresayi, abaduumiranga abasserikale olukumi lukumi mu ggye lya Manase. Ne bayamba Dawudi okulwanyisa abakwekwesi, kubanga bonna baali basajja ba maanyi abazira, era nga bakulu mu ggye. Buli lunaku wabangawo abeegatta ku Dawudi okumuyamba, okutuusa lwe baafuuka eggye eddene erifaanana eggye lya Katonda. Bino bye bibinja by'abaserikale abajja eri Dawudi e Kebbulooni nga bakutte eby'okulwanyisa, okumuyamba okufuuka kabaka mu kifo kya Sawulo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. Abaava mu kika kya Yuda abasobola okulwanyisa engabo n'amafumu baali kakaaga mu lunaana (6,800). Ab'omu kika kya Simyoni abasajja ab'amaanyi abazira baali kasanvu mu kikumi (7,100). Ab'omu kika kya Leevi baali enkumi nnya mu lukaaga (4,600). Yekoyaada ye yali omukulembeze w'abo abasibuka mu nnyumba Alooni, yajja n'abasserikale enkumi ssatu mu lusanvu (3,700). Zadoki, omuvubuka ow'amaanyi omuzira, n'abasserikale abaava mu nnyumba ya kitaawe baali abiri mu babiri (22). Ab'omu kika kya Benyamini abaalina oluganda ku Sawulo baali enkumi ssatu (3,000), kubanga okutuusa mu kiseera ekyo abasinga obungi mu kika ekyo baali bakyanyweredde ku nnyumba ya Sawulo. N'ab'omu kika kya Efulayimu abasajja ab'amaanyi abazira abaayatiikirira mu nnyumba za bajjajjaabwe baali emitwalo ebiri mu lunaana (20,800). N'abo kitundu ky'ekika kya Manase abaalondebwa okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana (18,000). Ab'omu kika kya Isakaali abasajja abaategeera ebiro bwe biri, era abamanyanga Isiraeri kyagwanidde okukola, era abaagonderwanga baganda baabwe bonna baali bibiri (200). Ab'omu kikya kya Zebbulooni abasobola okulwana nga bamalirivu nga bakozesa eby'okulwanyisa eby'engeri zonna emitwalo etaano (50,000). Ab'omu kika kya Nafutaali baali abakulembeze lukumi (1,000) abalina abasserikale babwe abakwata engabo n'amafumu baali emitwalo esatu mu kasanvu (37,000). Ab'omu kika kya Daani abaayinza okulwana baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga (28,600). Ab'omu kika kya Aseri abaayinza okulwana baali emitwalo ena (40,000). N'abava mu bika ebyali ebuvanjuba wa Yoludaani, ekya Lewubeeni, ekya Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase, abasobola okulwana nga bakozesa eby'okulwanyisa eby'engeri zonna baali akasiriivu mu emitwalo ebiri (120,000). Abo be basajja abalwanyi abaali abamalirivu okulwana era abeegattibwako n'aba Isiraeri abalala bonna abamalirivu abagenda e Kebbulooni okufuula Dawudi kabaka wa Isiraeri yonna. Ne bamalayo ennaku ssatu nga bali ne Dawudi, nga balya era nga banywa ebyo baganda baabwe bye baali babategekedde. Abantu abaali ab'okumpi, n'abaali ab'ewala ng'ab'ebika ekya Isakaali, n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, ne baleeta endogoyi, eŋŋamira, ennyumbu, n'ente nga zeetisse emigaati, eby'okulya eby'obutta, ebitole byettini, ebirimba bye zabbibu enkalu, omwenge n'amafuta g'emizeyituni. Ne baleeta n'ente n'endiga nnyingi ez'okutta okulya, kubanga mu Isiraeri yonna mwalimu essanyu. Awo Dawudi n'ateesa n'abakulu b'enkumi n'ab'omu ggye lye. Dawudi n'agamba abantu ba Isiraeri bonna abaali bakuŋŋaanye nti Bwe muba nga mukisiima era nga kivudde eri Mukama Katonda waffe, tutumire baganda baffe abalala mu bitundu bya Isiraeri byonna, ne bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe ne mu byalo bajje batwegatteko: tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe gye twali tulagajalidde ku mirembe gya Sawulo. Bonna abaali bakuŋŋaanye ne bakisiima, kubanga baalaba nga kituufu. Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Abaisiraeri bonna, okuva kagga Sikoli akali ku nsalo n'e Misiri okutuuka awayingirirwa e Kamasi, okuleeta essanduuko y'endagaano ya Katonda eyo nga bagiggya e Kiriyasuyalimu. Awo Dawudi n'agenda n'Abaisiraeri bonna e Baala, ye Kiriyasuyalimu, eky'omu Yuda, okukimayo essanduuko ey'endagaano eya Katonda, eyitibwa Erinnya lya Mukama atuula ku bakerubi. Essanduuko ya Katonda ne bagitwalira ku kigaali ekiggya, nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu. Uzza ne Akiyo ne bavuga ekigaali ekyo. Dawudi n'Abaisiraeri bonna ne bazina n'amaanyi gaabwe gonna mu maaso ga Katonda, nga bayimba era nga bakuba ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ensaasi, n'amakondeere. Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Kidoni, ente ne zeesittala, Uzza n'agolola omukono gwe n'akwata essanduuko okugiziyiza okugwa. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n'amutta, kubanga yakwata ku ssanduuko: n'afiira awo mu maaso ga Katonda. Dawudi n'anyiiga, kubanga Mukama yabonereza Uzza mu busungu n'obukambwe. Okuva olwo ekifo ekyo ne kiyitibwa Perezuzza. Dawudi n'atya Katonda ku lunaku olwo, ng'ayogera nti n'akomyawo ntya essanduuko ya Katonda eka ewange? Awo Dawudi n'ataleeta ssanduuko ewuwe mu kibuga kya Dawudi naye n'agikyamya n'agiteeka mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu n'eba ne Obededomu mu nnyumba ye: Mukama n'awa omukisa ennyumba ya Obededomu ne byonna bye yalina. Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka, n'amuweereza emivule, abazimbi b'amayinja, n'ababazzi, okumuzimbira ennyumba. Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, kubanga obwakabaka bwe yabugulumiza ku lw'abantu be Isiraeri. Awo Dawudi ng'ali e Yerusaalemi, ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Gano ge mannya g'abaana be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa, Sobabu, Nasani, Sulemaani; Ibukali, Eriswa, Erupereti; Noga, Nefegi, Yafiya; Erisaama, Beeriyadda ne Erifereti. Awo Abafirisuuti bwe baawulira Dawudi ng'afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri yenna, ne bambuka okumuwamba: Dawudi bwe yakiwulira n'agenda abalwanyise. Era Abafirisuuti, baali bamaze okuzinda ekiwonvu Lefayimu. Dawudi n'abuuza Katonda ng'ayogera nti Ntabaale Abafirisuuti? era onoobagabula mu mukono gwange? Mukama n'amuddamu nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo. Awo Dawudi n'abalwanyisa, n'abawangulira e Baaluperazimu; Dawudi n'ayogera nti Katonda amenye abalabe bange n'omukono gwange ng'amazzi bwe gamenya ebbibiro. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Baaluperazimu. Abafirisuuti bwe badduka ne baleka eyo bakatonda baabwe ab'ebifaananyi; Dawudi n'alagira ne babookya omuliro. Abafirisuuti ne bazinda nate ekiwonvu olwokubiri. Dawudi nate n'abuuza Katonda; Katonda n'amuddamu; Tobawondera: kyuka obaveeko. Naye weetooloole obalumbe nga ofuluma mu maaso g'emitugunda. Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka olumba, kubanga nze Katonda nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafirisuuti. Dawudi n'akola nga Katonda bwe yamulagira: ne bakuba eggye ery'Abafirisuuti ne baliwangula okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri. Ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna; Mukama n'aleetera amawanga gonna okutya Dawudi. Awo Dawudi ne yeezimbira amayumba mu kibuga kya Dawudi: n'ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n'agisimbira eweema. Dawudi n'agamba nti Si kirungi omuntu atali mu Leevi okusitula essanduuko ya Katonda kubanga Abaleevi: kubanga abo Mukama be yalonda okusitulanga essanduuko ya Katonda, n'okumuweerezanga ennaku zonna. Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna e Yerusaalemi okutwala essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde. Dawudi n'akuŋŋaanya ab'olulyo lwa Alooni n'Abaleevi okuweerezanga: ku b'omu nnyumba ya Kokasi ne wajja Uliyeri omukulu, ne baganda be kikumi mu abiri (120). Ku b'ennyumba ya Merali ne wajja Asaya omukulu, ne baganda be bibiri mu abiri (220). Ku b'ennyumba ya Gerusomu ne wajja Yoweeri omukulu, ne baganda be kikumi mu asatu (130). Ku b'ennyumba ya Erizafani ne wajja Semaaya omukulu, ne baganda be bibiri (200). Ku b'ennyumba ya Kebbulooni ne wajja Eryeri omukulu, ne baganda be kinaana (80). Ku b'ennyumba ya Wuziyeeri ne wajja Amminadaabu omukulu, ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri (112). Dawudi n'ayita Zadoki ne Abiyasaali, bakabona n'Abaleevi: Uliyeri, Asaya, Yoweeri, Semaaya, Eryeri ne Amminadaabu, n'abagamba nti Mmwe bakulu mu nnyumba za bajjajjammwe ez'Abaleevi: kale mwetukuze, mmwe era ne baganda bammwe, mulyoke mutwale essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri mu kifo kye ngitegekedde. Ku mulundi ogwasooka si mwe mwagisitula Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira n'atubonereza kubanga tetwakola nga ebiragiro bye bwe biri. Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza balyoke batwale essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri. Abaana b'Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Katonda ku bibegabega byabwe n'emisituliro gyako nga Musa bwe yalagira ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. Dawudi n'agamba Abaleevi abakulu balonde baganda baabwe abayimbi, nga balina ebivuga, entongooli n'ennanga n'ebitaasa, nga babikuba era nga bayimba nnyo n'essanyu. Awo Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri; ne ku baganda be, ne Asafu mutabani wa Berekiya n'omu ku baganda be. Ku b'ennyumba ya Merali ne balondayo Esani mutabani wa Kusaya omu ku baganda baabwe. Ne bateekawo ne baganda baabwe ab'okubayambako: Zekkaliya, Beni, Yaaziyeri, Semiramoosi, Yekyeri, Unni, Eriyaabu, Benaya, Maaseya, Mattisiya, Erifereku, Mikuneya, Obededomu ne Yeyeeri, abaggazi. Awo abayimbi, Kemani, Asafu, ne Esani ne balondebwa okukuba ebitaasa eby'ebikomo. Zekkaliya, Aziyeri, Semiramoosi, Yekyeri, Unni, Eriyaabu, Maaseya ne Benaya ne balondebwa okukuba entongooli ez'eddoboozi erya waggulu. Mattisiya, Erifereku, Mikuneya, Obededomu, Yeyeeri ne Azaziya ne balondebwa okukulembera ennyimba nga bakuba ennanga n'eddoboozi eryeggunda. Kenaniya omukulu w'Abaleevi ye yalondebwa okulabirira okuyimba n'okuyigirizanga okuyimba kubanga yali mukugu mu kuyimba. Berekiya ne Erukaana be baalondebwa okuba abaggazi abakuuma essanduuko ey'endagaano. Bakabona Sebaniya, Yosafaati, Nesaneeri, Amasayi, Zekkaliya, Benaya ne Eryeza be baalondebwa okufuuwa amakkondeere mu maaso g'essanduuko ya Katonda nga bali wamu ne Obededomu ne Yekiya abaggazi abakuuma essanduuko. Awo Dawudi n'abakadde ba Isiraeri n'abaami b'enkumi ne bagenda okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu n'essanyu: awo Abaleevi bwe baalaba nga Katonda abasobozeseza okusitula essanduuko ey'endagaano eya Mukama, ne bawaayo saddaaka ey'ente musanvu n'embuzi ennume musanvu. Dawudi n'ayambala omunagiro ogwa bafuta ennungi, n'Abaleevi bonna abaasitula essanduuko n'abayimbi ne Kenaniya omukulu w'abayimbi nga bwe batyo bwe bambadde. Bwe batyo Abaisiraeri ne batwala essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga bayimbira waggulu n'essanyu nga bwe bafuuwa eŋŋombe n'amakondeere era nga bwe bakuba ebitaasa, entongooli n'ennanga. Awo olwatuuka essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yali ng'ejja mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'azina era nga bwabuuka; n'amunyooma mu mutima gwe. Ne bayingiza essanduuko ya Katonda, ne bagisimba wakati mu weema Dawudi gye yagikubira: ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Katonda. Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama. N'agabira buli muntu mu Isiraeri, abasajja n'abakazi omugabo; omugaati, ennyama n'ekitole eky'ezabbibu ekikalu. N'assaawo abamu ku Baleevi okusabanga, okwebazanga n'okutenderezanga Mukama ku lwa Isiraeri. Asafu ye yalondebwa okuba omukulu, ng'addirirwa Zekkaliya, Yeyeeri, Semiramoosi, Yekyeri, Mattisiya, Eriyaabu, Benaya, Obededomu ne Yeyeeri, be baali abakubi b'entongooli n'ennanga. Asafu ye yakubanga ebitaasa ebivuga ennyo. Bakabona babiri Benaya ne Yakaziyeeri be bafuuwanga bulijjo amakkondeere mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Katonda. Ku lunaku olwo Dawudi kwe yateerawo Asafu ne baganda be, n'abalagira okuyimbiranga Mukama okumwebaza. Mwebaze Mukama, Mukoowoole erinnya lye; Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga. Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza; Mwogere ku by'amagero bye byonna. Mwenyumirize olw'erinnya lye ettukuvu; Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyuke. Munoonye Mukama n'amaanyi ge; Munoonye amaaso ge ennaku zonna. Mujjukire eby'amagero bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango; gye yasala, Mmwe ezzadde lya Isiraeri omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be. Oyo ye Mukama Katonda waffe: Ensala y'emisango gye ebuna ensi zonna. Mujjukire endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi (1,000): (Endagaano) gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka; N'ekyo n'akinyweza eri Yakobo okuba etteeka, Eri Isiraeri okuba endagaano eteriggwaawo: Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani, Omugabo ogw'obusika bwammwe: Mwali batono nga temwala; Era mwali batambuze mu nsi eyo; nga mutambula okuva mu nsi emu okudda mu ndala, Okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala. Teyakkiriza muntu kubabonyaabonya; yanenya bakabaka ku lwabwe; Ng'abagamba nti Temukomanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange. Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; Mwolese obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku. Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna. Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Era agwana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu. Yeetooloddwa ekitiibwa n'obukulu, obuyinza n'essanyu biri awo wali. Muwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Muwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi. Muwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge: Musinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu. Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana. Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Boogere mu mawanga nti Mukama afuga. Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna; Emiti egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu mu maaso ga Mukama, Kubanga ajja okusalira ensi emisango. Kale mwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna. Mwogere nti Otulokole, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, Otukuŋŋaanye otuwonye mu mawanga, Okwebaza erinnya lyo ettukuvu, N'okujaguliza ettendo lyo. Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Awo abantu bonna ne baddamu nti, Amiina, ne batendereza Mukama. Kabaka Dawudi n'alekawo Asafu ne baganda be, bakolanga omulimu gw'obuweereza mu maaso g'essanduuko y'endagaano ya Mukama, nga bwe kyabanga kyetaagisa buli lunaku. N'alekawo ne Obededomu mutabani wa Yedusuni ne Kosa n'Abaleevi bannaabwe nkaaga mu munaana (68) okuba abaggazi. N'ateekawo Zadoki ne bakabona banne mu weema ya Mukama e Gibyoni mu kifo ekigulumivu eky'e Gibyoni. okuweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa obutayosa enkya n'akawungeezi, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yalagira Isiraeri; awamu n'abo n'ateekawo ne Kemani ne Yedusuni, n'abalala abaalondebwa, abaayawuddwa amannya gaabwe, okwebazanga Mukama olw'ekisa kye, kubanga kibeerawo emirembe gyonna; Kemani ne Yedusuni era be baakuumanga amakkondeere n'ebitaasa n'ebivuga ebirala, n'abalala bonna bye baakubanga okuyimbira Katonda. Ab'ennyumba ya Yedusuni be baateekebwawo okuba abaggazi. Abantu bonna ne bagenda buli muntu ewuwe: Dawudi naye n'addayo okusabira ennyumba ye omukisa. Awo olwatuuka Dawudi bwe yali mu nnyumba ye, n'agamba Nasani nnabbi nti Laba, nze mbeera mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama eri mu weema. Nasani n'agamba Dawudi nti Kola byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Katonda ali wamu naawe. Awo olwatuuka mu kiro ekyo ekigambo kya Katonda ne kimujjira Nasani “Genda ogambe Dawudi omuddu wange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Tojja kunzimbira nnyumba ya kubeeramu; kubanga sibeeranga mu nnyumba okuviira ku lunaku lwe nnaggya aba Isiraeri mu Misiri n'okutuusa leero, wabula n'abeeranga mu weema, era n'avanga mu kifo ekimu, ne nzira mu kifo ekirala. Mu bifo byonna gye nnaakatambula ne Isiraeri yenna nali njogedde ekigambo n'omulamuzi yenna ku balamuzi ba Isiraeri, be nnalagira okuliisa abantu bange, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?’ Kale nno bw'otyo bw'onoogamba omuddu wange Dawudi, nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nnakuggya ku kisibo ky'endiga, okugoberera endiga, obeere omulangira w'abantu bange Isiraeri: era n'abeeranga naawe buli gye wagendanga, ne mmalawo abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya okufaanana erinnya ly'abakulu abali mu nsi. Era ndibateekerawo ekifo abantu bange Isiraeri, era ndibasimba babeere mu kifo kyabwe bo, baleme okujjulukuka nate; so n'abaana b'obubi tebaabazikirizenga nate, ng'olubereberye, era (nga bwe kyali) okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndiwangula abalabe bo bonna. Era nkugamba nga Mukama alikuzimbira ennyumba. Ennaku zo bwe ziriggwako n'ogenda eri bajjajja bo, omu ku batabani bo, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe. Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe y'obwakabaka bwe emirembe gyonna. Nze n'abeeranga kitaawe, naye anaabanga mwana wange: so siimuggyengako kusaasira kwange, nga bwe nnakuggya ku oyo eyakusooka: naye n'amutuuzanga mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna: n'entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.” Ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali era ng'okwolesebwa okwo kwonna bwe kwali, bw'atyo Nasani bwe yagamba Dawudi. Awo kabaka Dawudi n'ayingira mu weema, n'atuula mu maaso ga Mukama; n'agamba nti Ayi Mukama Katonda, nze n'ab'ennyumba yange tetusaanidde bino byonna bye wankolera. Era ekigambo kino kyali kitono mu maaso go, ayi Katonda; ate oyogedde ne ku bantu ab'ennyumba y'omuddu wo nga bwe baliba mu biro ebingi ebigenda okujja, era onkuzizza, ayi Mukama Katonda n'onfuula omuntu ow'ekitiibwa ennyo. Kale ate kiki ekirala nze Dawudi omuddu wo ky'enyinza okukugamba olw'ekitiibwa ky'onzisizaamu! Kubanga ggwe omanyi omuddu wo. Ayi Mukama okoledde omuddu wo ebintu bino byonna ebikulu n'obimanyisa nga ggwe bw'oyagala. Ayi Mukama, tewali akufaanana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twawulira n'amatu gaffe. Era ggwanga ki erimu eriri mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, ggwe Katonda be wagenda n'ob'enunulira okuba eggwanga, okwefunira erinnya n'ebigambo eby'entiisa ng'ogoba amawanga mu maaso g'abantu bo, be wanunula ng'obaggya e Misiri? Kubanga abantu ba Isiraeri wabafuula abantu bo emirembe gyonna naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe. Kale nno, ayi Mukama, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinywezebwenga emirembe gyonna, era okolanga nga bw'oyogedde. N'erinnya lyo linywezebwenga ligulumizibwenga emirembe gyonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda wa Isiraeri, Katonda eri Isiraeri: era ennyumba ya Dawudi omuddu wo enywezebwa mu maaso go. Kubanga ggwe, ayi Katonda wange, obikkulidde omuddu wo ng'olimuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde afuna amaanyi ag'okusaba mu maaso go. Era nno, ayi Mukama, ggwe Katonda, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi: era kaakano osiimye okuwa omukisa ennyumba y'omuddu wo, ebeerere mu maaso go emirembe gyonna: kubanga ggwe, ayi Mukama, owadde omukisa, era eweereddwa omukisa emirembe gyonna. Awo oluvannyuma lw'ebyo, Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula, n'awamba Gaasi n'ebyalo byako okuva ku Bafirisuuti. Dawudi n'awangula ab'e Mowaabu ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga omusolo. Dawudi n'akuba Kadalezeri kabaka w'e Zoba n'amuwangulira okumpi ne Kamasi bwe yali ng'agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati. Dawudi n'amuwambako amagaali lukumi (1,000), n'abeebagala embalaasi kasanvu (7,000), n'abatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), Dawudi n'atema enteega ez'embalaasi zonna ezisika amagaali, okujjako ezo ezisika amagaali kikumi (100). Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000). Awo Dawudi n'ateeka (ebigo) mu Busuuli obw'e Ddamasiko; Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleetanga ebirabo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadalezeri n'azitwala e Yerusaalemi. Ne mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadalezeri, Dawudi n'aggyamu ebikomo bingi nnyo, Sulemaani bye yakoza ennyanja ey'ekikomo, n'empagi, n'ebintu eby'ebikomo. Awo Toowu kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadalezeri kabaka w'e Zoba, n'atuma Kadolamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza kubanga alwanye ne Kadalezeri n'amuwangula anti Kadalezeri yali amumazeeko ebintu ebya zaabu n'effeeza n'ebikomo ebya buli ngeri. Ebintu byonna ebya feeza ne zaabu kabaka Dawudi n'abinyaga okuva mu mawanga gano: Edomu, Mowaabu, okuva mu baana ba Amoni, Abafirisuuti n'Abamaleki, n'abiwonga eri Mukama. Era nate Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'atta ku ba Edomu abantu lukumi mu lunaana (1,800) mu Kiwonvu eky'Omunnyo. N'azimba ebigo mu Edomu, aba Edomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga yonna. Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; n'atuukiriza emisango n'eby'ensonga eri abantu be bonna. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza. Ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Savusa ye yali omuwandiisi; Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu abaabeeranga ne kabaka ku lusegere. Awo oluvannyuma lw'ebyo Nakasi kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, mutabani we n'afuga mu kifo kye. Dawudi n'agamba nti Nnakolera eby'ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga kitaawe yankolera eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma ababaka eri Kanuni okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne bajja mu nsi y'abaana ba Amoni eri Kanuni, okumukubagiza. Naye abakungu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, n'okutuma n'akutumira okukubagiza? Abaddu be tebazze kwetegereza n'okuketta ensi balyoke bagiwambe? Awo Kanuni n'akwata abaddu ba Dawudi, n'abamwako ebirevu, n'asalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku butuuliro bwabwe, n'abasiibula. Awo abamu ne bagenda ne babuulira Dawudi bye babakoze abasajja abo. N'atumya okubasisinkana kubanga bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'abagamba nti Mubeere e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula ne mulyoka mukomawo. Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga banyiziiza Dawudi, Kanuni n'abaana ba Amoni ne baweereza talanta eza ffeeza lukumi (1,000) okupangisa amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotamiya ne mu Alamumaaka, ne mu Zoba. Awo ne bapangisa amagaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000), ne kabaka w'e Maaka n'abantu be; ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abaana ba Amoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bajja okulwana. Awo Dawudi bwe yakiwulira n'aweereza Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi. Abamoni ne bafuluma, ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu, ate bakabaka abajja, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale. Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Isiraeri abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasuuli. N'abantu abalala bonna n'abakwasa Abisaayi muganda we, ne beeteekateeka okulwanyisa abaana ba Amoni. N'agamba nti Abasuuli bwe banansinga amaanyi, onojja n'onnyamba naye abaana ba Amoni bwe banaakusinga amaanyi, kale nze najja nnenkuyamba. Guma omwoyo tulwane masajja ku lw'abantu baffe ne ku lw'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima. Awo Yowaabu n'abalwanyi be yali nabo ne basembera okulwanyisa Abasuuli, Abasuuli ne badduka okuva mu maaso gaabwe. Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, nabo bwe batyo ne badduka mu maaso ga Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi. Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa aba Isiraeri, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga, ne Sofaki omukulu w'eggye lya Kadalezeri nga ye mugabe. Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna n'asomoka Yoludaani, n'abatuukako n'asimba ennyiriri okulwana nabo. Awo Dawudi bwe yamala okusimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli, ne balwana naye. Abasuuli ne bawangulwa aba Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja abavuzi b'amagaali kasanvu (7,000), n'abatambuza ebigere emitwalo ena (40,000), n'atta Sofaki omukulu w'eggye. Awo abaddu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isiraeri, ne batabagana ne Dawudi, ne bafuuka baddu, olwo Abasuuli ne batakkiriza kuddayo kuyamba baana ba Amoni lwa kubiri. Awo olwatuuka, mu kiseera ky'omwaka bakabaka mwe batabaalira, Yowaabu n'akulembera eggye ery'amaanyi, n'azinda ensi y'abaana ba Amoni, n'azingiza ekibuga Labba. Kyokka kabaka Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'amenya Labba, n'akizikiriza. Awo Dawudi n'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, obuzito bwayo talanta ya zaabu, era nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; ne bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: ne banyaga omunyago mungi nnyo mu kibuga. Abantu abaali omwo n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa: emisumeeno, ensuuluulu, n'embazzi. Era bw'atyo Dawudi bwe yakola abantu mu bibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba entalo e Gezeri wakati w'Abaisiraeri n'Abafirisuuti: Sibbekayi Omukusasi n'atta Sippayi ow'oku baana b'erintu liri eriwagguufu: Abafirisuuti ne bawangulwa. Ne waba nate entalo n'Abafirisuuti; Erukanani mutabani wa Yayiri n'atta Lakami muganda wa Goliyaasi Omugitti, olunyago olw'effumu lye lwali lwenkana ng'omuti ogulukirwako engoye. Ne waba nate entalo e Gaasi, eyali omusajja omuwanvu ennyo, nga engalo ze n'obugere bwe bwali abiri mu buna (24), buli mukono kwaliko engalo mukaaga (6), na buli kigere kwaliko obugere mukaaga (6) era naye yazaalirwa erintu eryo. Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'amutta. Abo bonna abaazaalirwa erintu eryo e Gaasi; ne battibwa Dawudi n'abaddu be. Awo Setaani n'asituka okuleetera Isiraeri emitawaana, n'asendasenda Dawudi okubala Isiraeri. Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulu abalala mu ggye nti, “Mugende mubale abantu ba Isiraeri bonna okuva e Beeruseba okutuusa e Ddaani; mukomewo muntegeeze omuwendo gwabwe.” Yowaabu n'ayogera nti, “Mukama ayaze abantu be, beeyongere obungi emirundi kikumi (100); mukama wange kabaka, bonna si bantu bo? Naye mukama wange kiki ekimulagizza ekigambo kino? Kiki ekimwagaza okukola ekyo ekinaaletera Isiraeri yonna omusango?” Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ekya Yowaabu. Yowaabu kyeyava agenda n'abuna Isiraeri yonna n'alyoka akomawo e Yerusaalemi. Yowaabu n'aleetera Dawudi omuwendo ogw'abantu ababalibwa. Abantu bonna aba Isiraeri baali kakadde mu kasiriivu (1,100,000). Abasajja abaali basobola okulwana, mu Yuda baali abasajja obusiriivu buna mu emitwalo musanvu (470,000) abasobola okulwana. Naye ab'omu kika kya Leevi ne Benyamini teyababaliramu, kubanga ekigambo kya kabaka Yowaabu teyakisiima. Katonda n'anyiiga olw'ekyo ekyakolebwa; kyeyava abonyaabonya Isiraeri. Dawudi n'agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo, kubanga nnakola ekigambo ekyo; naye kaakano, nkwegayiridde ggyawo obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nnakola eky'obusirusiru.” Mukama n'agamba Gaadi nnabbi wa Dawudi nti, “Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkuteekeddewo ebigambo bisatu; weerobozeeko ekimu, kyemba nkukola.’ ” Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi n'amugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ky'onooyagala; oba emyaka esatu egy'enjala; oba emyezi esatu (3) ng'oyigganyizibwa abalabe bo, oba ennaku ssatu (3) nga Mukama akulumba n'ekitala kye, asindike kawumpuli mu nsi yo, ne malayika wa Mukama agende ng'azikiriza abantu mu nsalo zonna eza Isiraeri.’ Kale nno, lowooza bwe mba mmuddamu oyo antumye.” Dawudi n'agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri ngwe nno mu mukono gwa Mukama mbonerezebwe, kubanga okusaasira kwe kungi nnyo; nneme okugwa mu mukono gw'abantu.” Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri; awo mu Isiraeri ne mufaamu abasajja emitwalo musanvu (70,000). Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemi okukizikiriza; awo bwe yali ng'anaatera okukizikiriza, Mukama n'atunula, ne yejjusa akabi ako, n'agamba malayika azikiriza nti, “Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo oguzikiriza.” Malayika wa Mukama yali ayimiridde awali egguuliro lya Olunaani Omuyebusi. Dawudi n'ayimusa amaaso ge n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte ekitala ekisowoddwa mu ngalo ze, ekigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n'abakadde, nga bambadde ebibukutu, ne balyoka bavuunama amaaso gaabwe. Dawudi n'agamba Katonda nti, “Si nze nnalagira okubala abantu? Nze nnyonoonye ne nkola eby'ekyejo bingi; naye endiga zino bakoze ki bo? Nkwegayiridde, ayi Mukama Katonda wange, omukono gwo gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; naye guleme okuba ku bantu bo obawonye kawumpuli.” Awo malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, agende, azimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. Dawudi n'agenda nga Gaadi, bwe yamugamba mu linnya lya Mukama. Olunaani n'akyuka n'alaba malayika; ne batabani be abana abaali naye ne beekweka. Era Olunaani yali ng'awuula eŋŋaano. Awo Dawudi bwe yajja eri Olunaani, Olunaani n'atunula n'alaba Dawudi, n'ava mu gguuliro, n'avuunama mu maaso ga Dawudi. Awo Dawudi n'agamba Olunaani nti, “Nguza ekibanja eky'egguuliro lino, nzimbirewo Mukama ekyoto, nja kukisasula omuwendo gwennyini ogukigyamu; kawumpuli aziyizibwe mu bantu.” Awo Olunaani n'agamba Dawudi nti, “Mukama wange Kabaka, ekibanja ekirimu egguliro kyetwalire, okole ekyo ky'onoosiima; laba, nkuwadde ente okuba ebiweebwayo ebyokebwa n'ebintu ebiwuula okuba enku n'eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky'obutta; byonna mbikuwadde buwa.” Kabaka Dawudi n'agamba Olunaani nti, “Nedda; naye mazima nnaabigula omuwendo gwennyini ogubigyamu; kubanga sitoole ku bibyo okuwa Mukama, so siweeyo ekiweebwayo ekyokebwa kyesisasulidde.” Awo Dawudi n'asasula Olunaani sekeri eza zaabu ezipimibwa lukaaga (600), okugula ekibanja. Dawudi n'azimbira Mukama ekyoto eyo, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asaba Mukama; Mukama n'amuddamu n'omuliro ng'ayima mu ggulu ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa. Mukama n'alagira malayika; malayika n'azza ekitala kye mu kiraato kyakyo. Mu biro ebyo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu ky'amusabye ng'ali mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, n'aweerangayo ssaddaaka mu kifo ekyo. Kubanga eweema ya Mukama, Musa gye yakola mu ddungu, n'ekyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa, mu biro ebyo byali nga biri mu kifo ekigulumivu e Gibyoni. Kyokka nga Dawudi tayinza kugenda mu maaso gaayo okubuuza Katonda; kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama. Awo Dawudi n'ayogera nti, “Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri.” Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya bannamawanga bonna abaali mu nsi ya Isiraeri; n'alondamu ab'okwasa amayinja n'okugakomola okuzimba ennyumba ya Katonda. Dawudi n'ategeka ebyuma bingi eby'okuweesamu enninga n'enzigi ez'emizigo n'olw'ebigatta; n'ebikomo bingi ebitapimika; era n'embaawo ez'emivule ezitabalika; kubanga Abazidoni n'Abatuulo baaleeta emivule mingi eri Dawudi. Dawudi n'ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n'ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey'ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna; kyendiva ngitegekera.” Awo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa. Awo Dawudi n'ayita Sulemaani mutabani we n'amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba. Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti, “Nze, kyali mu mutima gwange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba. Naye Mukama n'antumira ekigambo kye nga agamba nti, ‘Wayiwa omusaayi mungi, n'olwana entalo nnyingi; tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange. Laba, olizaalirwa omwana ow'obulenzi, aliba omusajja ow'emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna; kubanga erinnya lye aliyitibwa Sulemaani, era ndiwa emirembe n'okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye. Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana wange, nange n'abanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe mu Isiraeri emirembe gyonna.’ Kale, mwana wange Mukama abeere naawe; olabe omukisa, ozimbe ennyumba ya Mukama Katonda wo, nga bwe yakwogerako. Kyokka Mukama akuwe amagezi n'okutegeera, nga bwakuwadde okufuga Isiraeri; okwatenga amateeka ga Mukama Katonda wo. Bw'otyo bw'onoolabanga omukisa, bw'oneekuumanga okukola amateeka n'ebiragiro, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri. Ba n'amaanyi, ogume omwoyo, totya, so totekemuka. Laba nno, nze mu kufuba kwange kwonna ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu (100,000), ne talanta eza ffeeza kakadde (1,000,000), n'ebikomo n'ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo; era ntegese n'emiti n'amayinja; kw'ebyo naawe kw'olyongereza. Era awamu naawe waliwo abakozi b'emirimu bangi nnyo, abayasa amayinja n'abo abagazimbisa, n'ababazzi, n'abantu abalala abalina amagezi n'obumanyirivu okukola emirimu egya buli ngeri; egya zaabu ne ffeeza, n'ebikomo n'ebyuma; kale situka okole omulimu, era Mukama abeere naawe.” Era Dawudi n'alagira n'abakulu bonna aba Isiraeri okuyamba Sulemaani mutabani we, ng'ayogera nti, “Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde mirembe enjuyi zonna? Kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maaso ga Mukama, ne mu maaso g'abantu be. Kale munyweze omutima gwammwe n'emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; era musituke muzimbe ekigwa kya Mukama Katonda, mulyoke muleete essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'ebintu ebitukuvu ebya Katonda mubiyingize mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama.” Awo Dawudi yali ng'akaddiye era ng'awangadde ennaku nnyingi; n'afuula Sulemaani mutabani we kabaka wa Isiraeri. Kabaka Dawudi n'akuŋŋaanya abakulu bonna aba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi. Abaleevi bonna abawezezza emyaka asatu (30) n'okusingawo ne babalibwa: n'omuwendo gwabwe kinnoomu gwali emitwalo esatu mu kanaana (38,000). Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000), ba kulabirira mulimu gwa mu nnyumba ya Mukama; n'akakaaga (6,000), n'abawa gwa bwami n'akusalanga misango, enkumi nnya (4,000), n'abawa gwa buggazi; era nate enkumi nnya (4,000), n'abawa gwa kutenderezanga Mukama n'ebivuga kabaka bye yateekawo olw'omulimu ogwo. Dawudi n'abagabanya mu mpalo ng'abaana ba Leevi bwe baali; Gerusoni, Kokasi, ne Merali. Batabani ba Gerusoni baali; Ladani ne Simeeyi. Batabani ba Ladani baali basatu; omukulu ye Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri. Batabani ba Simeeyi baali basatu (3). Seromosi, ne Kaziyeri, ne Kalani. Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe abasibuka mu Ladani. Ne batabani ba Simeeyi, baali bana era be bano: Yakasi, Zina, ne Yewusi, ne Beriya. Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali ow'okubiri; naye Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi; kyebaava babalibwa ng'ennyumba emu eya bakitaabwe. Batabani ba Kokasi baali bana (4) era be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri. Batabani ba Amulaamu baali: Alooni ne Musa; Alooni n'ayawulibwa atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, ye ne batabani be emirembe gyonna, okwoterezanga obubaane mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna. Naye Musa omusajja wa Katonda, batabani be baabalirwa mu kika kya Leevi. Batabani ba Musa baali; Gerusomu ne Eryeza. Sebweri ye yali mutabani wa Gerusomu omukulu. Eryeza yalina mutabani we omu yekka ye Lekabiya. Eryeza n'ataba na baana balala ba bulenzi; kyokka batabani ba Lekabiya ne baba bangi nnyo. Seromisi ye yali mutabani wa Izukali omukulu. Kebbulooni yalina batabani be bana; Yeriya omukulu, Amaliya ow'okubiri, Yakaziyeeri ow'okusatu, ne Yekameyamu ow'okuna. Batabani ba Wuziyeeri baali; Mikka omukulu, ne Issiya ye w'okubiri. Batabani ba Merali baali; Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli baali; Eriyazaali ne Kiisi. Eriyazaali n'afa, nga talina baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala abeereere; Bannyinaabwe batabani ba Kiisi ne babawasa. Batabani ba Musi baali basatu be bano: Makuli, Ederi, ne Yeremoosi. Abo be baali batabani ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era nga be bakulira ennyumba ezo. Bonna abaabalibwa ku bo, omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo ne bawandiikibwa nga be b'okukola omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama. Kubanga Dawudi yayogera nti, “Mukama Katonda wa Isiraeri awadde abantu be emirembe; era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna. N'olwekyo Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema n'ebintu byonna ebikozesebwa olw'okuweereza kwayo.” Kubanga mu bigambo bya Dawudi eby'enkomerero yalagira abaana ba Leevi, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo be baba babalibwa. Kubanga omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga batabani ba Alooni olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, mu mpya zaayo ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, gwe mulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda; era n'okulabiriranga emigaati egy'okulaga n'olw'obutta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, oba migaati gya mpewere egitazimbulukuswa oba ekyo ekisiikibwa ku kikalango, oba ekyo ekinnyikibwa, n'olw'engeri zonna ekigero bwe kyenkana n'obunene nga bwe bwenkana; balinanga n'okuyimiriranga buli nkya okwebazanga n'okutenderezanga Mukama, era n'okukola bwe batyo buli akawungeezi; n'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa byonna eri Mukama, ku Ssabbiiti, n'emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo, omuwendo gwabyo ng'ekiragiro kyabyo bwe kiri, obutayosanga mu maaso ga Mukama: era bakuumenga eweema ey'okusisinkanirangamu gye baateresebwa, n'ekifo ekitukuvu kye baateresebwa, n'ebyo batabani ba Alooni baganda baabwe bye baateresebwa, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama. Empalo za batabani ba Alooni zaali bwe ziti. Batabani ba Alooni; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. Naye Nadabu ne Abiku ne basooka kitaabwe okufa nga tebalina baana; Eriyazaali ne Isamaali kyebaava bakola omulimu ogw'obwakabona. Dawudi wamu ne Zadoki ow'oku batabani ba Eriyazaali ne Akimereki ow'oku batabani ba Isamaali ne baawulamu bakabona ebibinja bye banaakolerangamu okuweereza kwabwe. Awo ne walabika abasajja abakulu bangi ku batabani ba Eriyazaali, okusinga ab'oku batabani ba Isamaali; era bwe bati bwe baabawulamu: ku batabani ba Eriyazaali bayawulwamu ennyumba kkumi na mukaaga (16), nga be bakulu be nnyumba za bakitaabwe; ne ku batabani ba Isamaali, nabo bayawulibwamu ennyumba munaana (8) nga be bakulu be nnyumba za bakitaabwe. Olw'okubanga waaliwo abakulira ekifo ekitukuvu, n'abakulira okusinza ku njuyi zombi; ku batabani ba Eriyazaali era ne ku batabani ba Isamaali; emirimu gyonna gyagabibwanga nga bakuba bululu. Awo Semaaya mutabani wa Nesaneeri omuwandiisi ow'oku Baleevi, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka, n'abakungu ne Zadoki kabona ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali; ng'obukulu bw'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi bwe zaali; akalulu akamu nga kalonderwa ennyumba ya Eriyazaali, n'akalala n'ekalonderwa ennyumba ya Isamaali. Awo akalulu ak'olubereberye ne kagwa ku, Yekoyalibu, ak'okubiri ku Yedaya; ak'okusatu ku Kalimu, ak'okuna ku Seyolimu; ak'okutaano ku Malukiya; ak'omukaaga ku Miyamini; ak'omusanvu ku Kakkozi, ak'omunaana ku Abiya; ak'omwenda ku Yesuwa; ak'ekkumi (10) ku Sekaniya; ak'ekkumi n'akamu (11) ku Eriyasibu, n'ak'ekkumi n'obubiri (12) ku Yakimu; ak'ekkumi n'obusatu (13) ku Kuppa, ak'ekkumi n'obuna (14) ku Yesebeyabu; ak'ekkumi n'obutaano (15) ku Biruga, ak'ekkumi n'omukaaga (16) ku Immeri; ak'ekkumi n'omusanvu (17) ku Keziri, ak'ekkumi n'omunaana (18) ku Kapizzezi; ak'ekkumi n'omwenda (19) ku Pesakiya, ak'abiri (20) ku Yekezukeri; ak'abiri mu kamu (21) ku Yakini, ak'abiri mu obubiri (22) ku Gamuli; ak'abiri mu obusatu (23) ku Deraya, ak'abiri mu obuna (24) ku Maaziya. Bino bye byali ebisanja byabwe mu kuweereza kwabwe, okuyingiranga mu nnyumba ya Mukama ng'ekiragiro bwe kyali kye baaweebwa Alooni jjajjaabwe, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yali amulagidde. Bano be batabani ba Leevi abalala: ku batabani ba Amulaamu, Subayeri; ku batabani ba Subayeri, Yedeya. Ku batabani ba Lekabiya: mutabani we Issiya ye mukulu. Ku batabani ba Bayizukali, mutabani we Seromosi; ku batabani ba Seromosi, mutabani we Yakasi. Ne batabani ba Kebbulooni; mutabani we Yeriya ye mukulu, Amaliya ye w'okubiri, ne Yakaziyeeri ye w'okusatu, Yekameyamu ye w'okuna. Ku batabani ba Winziyeeri, mutabani we Mikka; ku batabani ba Mikka, mutabani we Samiri. Muganda wa Mikka, yali Issiya: ku batabani ba Issiya, mutabani we Zekkaliya. Ku batabani ba Merali; Makuli ne Musi: ne ku batabani ba Yaaziya; mutabani we Beno. Ku batabani ba Merali; mutabani we Yaaziya; era Yaaziya yalina batabani be bana be bano: Beno ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli. Ku batabani ba Makuli; Eriyazaali, teyazaala baana ba bulenzi. Ku batabani ba Kiisi; mutabani we Yerameeri. Ne batabani ba Musi; baali Makuli ne Ederi, ne Yerimoosi. Abo be baali batabani b'Abaleevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali. Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu nga baganda baabwe batabani ba Alooni bwe bakola mu maaso ga Dawudi kabaka, ne Zadoki ne Akimereki; n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; nga ennyumba za bakitaabwe ey'omukulu efaanana n'eya muganda we omuto. Dawudi n'abakulira eby'okusinza ne balonda batabani ba Asafu n'aba Kemani n'aba Yedusuni, ab'okulangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimbira ku nnanga, n'entongooli, n'ebitaasa: omuwendo gwabo abaakola omulimu ng'okuweereza kwabwe bwe kwali gwali bwe guti: ku batabani ba Asafu; Zakkuli ne Yusufu ne Nesaniya ne Asalera. Asafu ye yakulemberanga batabani be abo, ne balangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimba, nga kabaka alagidde. Ku ba Yedusuni; batabani be omukaaga be bano: Gedaliya ne Zeri ne Yesaya ne Simeeyi ne Kasabiya ne Mattisiya; nga bakulemberwa kitaabwe Yedusuni baalangiriranga obubaka bwa Mukama nga balina ennanga, baalagulanga nga beebaza era nga batendereza Mukama. Ku ba Kemani; batabani be: Kemani; Bukkiya, Mattaniya, Wuziyeeri, Sebuweri, ne Yerimoosi, Kananiya, Kanani, Eriyaasa, Giddaluti, ne Lomamutyezeri, Yosubekasa, Mallosi, Kosiri, Makaziyoosi: abo bonna baali batabani ba Kemani omulabi wa kabaka mu bigambo bya Katonda, eyayimusanga ejjembe lye. Katonda n'awa Kemani abaana ab'obulenzi kkumi na bana n'ab'obuwala basatu. Abo bonna baakulemberwanga bakitaabwe, okuyimbiranga mu nnyumba ya Mukama, n'ebitaasa, n'entongooli, n'ennanga, n'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda; nga kabaka bwe yabanga alagidde Asafu, Yedusuni, ne Kemani. N'omuwendo gwabo wamu ne baganda baabwe abaayigirizibwa okuyimbira Mukama, bonna abalina amagezi, gwali bibiri mu kinaana mu munaana (288). Bonna abakulu n'abato, abakugu n'abayiga, bakubirwanga obululu kyenkanyi okulondebwa ab'okuweebwanga emirimu. Awo akalulu ak'olubereberye, ku ba Asafu kaalonda Yusufu; ak'okubiri kaalonda Gedaliya, ye ne baganda be ne batabani be baali kkumi na babiri, ak'okusatu kaalonda Zakkuli, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'okuna kaalonda Izuli, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'okutaano kaalonda Nesaniya, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'omukaaga kaalonda Bukkiya, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'omusanvu kaalonda Yesalera, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'omunaana kaalonda Yesaya, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'omwenda kaalonda Mattaniya, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'ekkumi ne kalonda Simeeyi, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'akamu ne kalonda Azaleeri, ne batabani be ne baganda be kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'obubiri ne kalonda Kasabiya, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'obusatu, ne kalonda Subayeri, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'obuna ne kalonda Mattisiya, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'obutaano ne kalonda Yeremoosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'omukaaga ne kalonda Kananiya, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'omusanvu ne kalonda Yosubekasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'omunaana ne kalonda Kanani, ne batabani be ne baganda be kkumi na babiri. Ak'ekkumi n'omwenda ne kalonda Mallosi, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'abiri ne kalonda Eriyaasa, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'abiri mwaakamu ne kalonda Kosiri, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'abiri mw'obubiri ne kalonda Giddaluti, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'abiri mw'obusatu ne kalonda Makaziyoosi, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Ak'abiri mw'obuna ne kalonda Lomamutyezeri, ne batabani be ne baganda be, kkumi na babiri. Zino ze mpalo z'abaggazi: ku basibuka mu Bakola; Meseremiya mutabani wa Kola, ow'omu nnyumba ya Asafu. Era Meseremiya yalina abaana ab'obulenzi: Zekkaliya omubereberye, Yediyayeri ow'okubiri, Zebadiya ow'okusatu, Yasuniyeri ow'okuna; Eramu ow'okutaano, Yekokanani ow'omukaaga, Eriwenayi ow'omusanvu. Era Obededomu yalina abaana ab'obulenzi: Semaaya omubereberye, Yekozabadi ow'okubiri, Yowa ow'okusatu, ne Sakali ow'okuna, ne Nesaneeri ow'okutaano; Ammiyeri ow'omukaaga, Isakaali ow'omusanvu, Pewulesayi ow'omunaana: kubanga Katonda bwatyo bwe yawa Obededomu omukisa. Era Semaaya mutabani we n'azaalirwa abaana ab'obulenzi, abaafuga ennyumba ya kitaabwe: kubanga baali basajja ba maanyi abazira. Batabani ba Semaaya; Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi, ne Eruzabadi, baganda baabwe Eriku, ne Semakiya abasajja abazira. Abo bonna baali ba ku baana ba Obededomu: bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abakugu mu kuweereza okwo; baali nkaaga mu babiri. Era Meseremiya yalina abaana n'ab'oluganda, abasajja abazira, kkumi na munaana. Era Kosa ow'oku baana ba Merali yalina abaana; ab'obulenzi be bano: Simuli ono kitaawe yamufuula omukulu newakubadde nga si ye mubereberye; Kirukiya ow'okubiri, Tebaliya ow'okusatu, Zekkaliya ow'okuna: batabani ba Kosa bonna ne baganda be baali kkumi na basatu. Empalo z'abaggazi zaali z'abo, abaayawulwangamu okusinziira ku bukulu bwabwe, nga baliko bye bateresebwa nga baganda baabwe, Abaleevi abaweererezanga mu nnyumba ya Mukama. Ne bakuba obululu, abato era n'abakulu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali olwa buli mulyango. Akalulu ak'ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya. Awo ne bakubira obululu Zekkaliya mutabani we, omuteesa ow'amagezi; akalulu ke ne kamulondera omulyango ogw'omu bukiikakkono. Obededomu n'alonderwa gwa mu bukiikaddyo; ne batabani be ne baweebwa kukuuma ggwanika. Suppimu ne Kosa, ne baweebwa omulyango ogw'ebugwanjuba, n'omulyango Salekesi awaali olutindo olwambuka, nga abakuumi boolekera bakuumi bannaabwe. Abaleevi mukaaga baakumanga ku luuyi olw'ebuvanjuba, ne ku bukiikakkono buli lunaku bana, ku bukiikaddyo buli lunaku bana, n'ab'eggwanika babiri babiri. Abakuumi bana baali luuyi olw'ebugwanjuba, olw'oluggya awaali olutindo, ne mu luggya mwalimu babiri. Ezo ze zaali empalo z'abaggazi; ku batabani b'Abakola ne ku batabani ba Merali. Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w'amawanika g'ennyumba ya Katonda, era ow'amawanika gonna ag'ebintu ebyawongebwa. Ladani, omu ku batabani ba Gerusoni; yali jjajja we nnyumba nnyingi eziva mu b'Abagerusoni, ng'omwo mwotwalidde ne nnyumba ya Yekyeri. Batabani ba Yekyeri; Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baali abakulu b'amawanika g'ennyumba ya Mukama. Abakuumi abalala abaali mu ggwanika baali bava mu: Baamulamu, mu Bayizukali, mu Bakebbulooni, ne mu Bawuziyeeri; Sebweri mutabani wa Gerusomu, eyali ava mu lulyo lwa Musa, ye yali omukulu w'amawanika. Sebweri yalina oluganda olusibuka mu Eryeza muganda wa Gerusoni. Eryeza ye yazaala Lekabiya, Lekabiya n'azaala Yesaya, Yesaya n'azaala Yolaamu, Yolaamu n'azaala Zikuli, Zikuli n'azaala Seromosi. Seromosi oyo ne baganda be baali abakulu b'amawanika gonna ag'ebintu ebyawongebwa, Dawudi kabaka, n'abakulu b'ennyumba, abaami b'enkumi n'ebikumi, n'abaami b'eggye, bye baawonga. Ku munyago gwe baanyaga mu ntalo kwe baggya bye bawonga olw'okuddaabiriza ennyumba ya Mukama. Ne byonna Samwiri nnabbi ne Sawulo mutabani wa Kiisi ne Abuneeri mutabani wa Neeri ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya bye baawonga; buli muntu yenna eyawonganga ekintu kyonna, kyabanga wansi w'omukono gwa Seromosi ne baganda be. Mu basibuka mu Bayizukali, Kenaniya ne batabani be ne baweebwa omulimu ogutali gwa mu nnyumba ya Mukama, wabula ogw'ofuganga Isiraeri, n'okuba abaami n'abalamuzi. Ku Bakebbulooni, Kasabiya ne baganda be, abasajja abazira, lukumi mu lusanvu (1,700), be baalabiriranga Isiraeri emitala wa Yoludaani ku ludda ebugwanjuba, mu by'okusinza Mukama; n'olw'omulimu gwonna ogw'okuweereza kabaka. Yeriya ye yali omukulembeze w'abasibuka mu Bakebbulooni bonna, Abakebbulooni ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu nnyumba za bakitaabwe, nga bwe baali bawandiikiddwa. Mu mwaka ogw'ana nga Dawudi ye kabaka ne banoonyereza, ne wazuukawo mu bo abasajja ab'amaanyi abazira e Yazeri eky'e Gireyaadi. Ne baganda be abasajja abazira baali enkumi bbiri mu lusanvu (2,700), abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, kabaka Dawudi be yafuula abalabirizi b'Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika eky'Abamanase, ku bikwata ku Katonda, n'okuweereza kabaka. Luno lwe lukalala lw'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka ku mulimu gw'obukulembeze mu ba Isiraeri bonna. Buli mwezi okumalako emyezi gyonna egy'omwaka, waabangawo ekibinja ky'abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000), ekyabanga ku luwalo olw'okuweereza okwo, nga kirina abakikulira. Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yali omukulu w'oluwalo olwolubereberye olw'omu mwezi ogwolubereberye: era ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Oyo yali asibuka mu Pereezi, era ye yali omukulu w'abaami bonna ab'eggye eryali mu luwalo olw'omwezi ogwolubereberye. Ne Dodayi Omwakowa n'oluwalo lwe ye yali omukulu w'oluwalo olw'omwezi ogwokubiri; ne Mikuloosi omukungu: ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow'okusatu ow'eggye mu luwalo olw'omwezi ogwokusatu: n'ab'omu luwalo olwo baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Oyo ye Benaya eyali omusajja ow'amaanyi omu ku asatu, era omukulu w'abo asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa mu luwalo lwe. Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omukulembeze ow'okuna, era ye yakulembera oluwalo olw'omwezi ogwokuna, ne Zebadiya mutabani we ye yamuddirira: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Omuduumizi ow'okutaano era eyakulira oluwalo olwokutaano, ye Samukusi Omuyizula: n'ab'omu luwalo olulwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Omuduumizi ow'omukaaga era ow'omu mwezi ogw'omukaaga, yali Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa: n'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Omuduumizi ow'omusanvu era ow'omu mwezi ogw'omusanvu, yali Kerezi Omuperoni ow'oku baana ba Efulayimu: n'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Omuduumizi ow'omunaana era ow'omu mwezi ogw'omunaana, yali Sibbekayi Omukusasi ow'oku Bazera: n'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Abiyezeeri Omwanasosi ow'oku ba Benyamini ye yali omuduumizi ow'omwenda ow'omu mwezi ogw'omwenda: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Makalayi Omunetofa ow'oku Bazera ye yali omwami ow'ekkumi ow'omu mwezi ogw'ekkumi: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Benaya Omupirasoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omuduumizi ow'ekkumi n'omu ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Kerudayi Omunetofa, owa Osunieri, ye yali omuduumizi ow'ekkumi n'ababiri ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000). Luno lwe lukalala lw'abaali bakulira ebika bya Isiraeri: ku ba Lewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli: ku Basimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka: Kasabiya mutabani wa Kemweri, ye yali akulira Abaleevi: Zadoki nga yakulira abasibuka mu Alooni. Eriku, omu ku baganda ba kabaka Dawudi, ye yali akulira ekika kya Yuda: Omuli mutabani wa Mikayiri nga yakulira ekika kya Isakaali. Ekika kya Zebbulooni kyali kikulirwa Isumaaya mutabani wa Obadiya: n'ekya Nafutaali nga kikulirwa Yeremoosi mutabani wa Azuliyeeri. Akulira ab'ekika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya: nga n'akulira ekitundu ky'ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya. Yiddo mutabani wa Zekkaliya n'akulira ekitundu eky'okubiri eky'ekika kya Manase mu Gireyaadi: ekika kya Benyamini ne kikulirwa Yaasiyeri mutabani wa Abuneeri. Azaleeri mutabani wa Yerokamunga ye yali akulira ekika kya Daani. Abo be baali abakulu b'ebika bya Isiraeri. Naye Kabaka Dawudi n'atabala muwendo gwa ab'emyaka abiri n'abatannagiweza, kubanga Mukama yali ayogedde ng'alyongera Isiraeri ne baba bangi ng'emmunyeenye ez'omu ggulu. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'atandika okubala abantu, naye n'atamaliriza: obusungu bwa Mukama kyebwava bujja ku Isiraeri; so n'omuwendo ogwabalibwa tegwaawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya kabaka Dawudi. Era Azumavesi mutabani wa Adyeri ye yali mukulu wa mawanika ga kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya ye yali omukulu wa mawanika ag'omu bibuga, n'ag'omu byalo, n'ag'omu bigo ebigumu eby'okwerindiramu. Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w'abo abaakolanga emirimu egy'omu nnimiro. Simeeyi Omulaama ye yali omukulu w'ensuku z'emizabbibu: ne Zabudi Omusifumu ye yali omukulu w'ebibala eby'ensuku ebyanogebwanga okuteekebwa mu masogolero ag'omwenge. Baalukanani Omugedera ye yali omukulu eyalabiriranga emiti emizeyituuni n'emisukomooli egyali mu nsenyi: ne Yowaasi ye yali omukulu w'amawanika g'amafuta agaavanga mu mizeyituni. Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w'ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w'ebisibo ebyali mu biwonvu. Obiri Omuyisimaeri ye yali omukulu eyalabiriranga eŋŋamira: ne Yedeya Omumeronoosi ye yali omukulu eyalabiriranga endogoyi. Yazizi Omukaguli ye yali omukulu eyalabiriranga embuzi. Abo bonna be baali abakulu abaalabiriranga ebintu ebya kabaka Dawudi. Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muwi wa magezi mulungi, omusajja omutegeevu era nga munnyonnyozi wa mateeka. Ye ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni be baalabiriranga abaana ba kabaka. Akisoferi; kabaka gwe yeebuuzangako: Kusaayi Omwaluki ye yali mukwano gwa kabaka. Yekoyaada mutabani wa Benaya n'addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lya kabaka. Dawudi n'akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isiraeri, abakulu b'ebika, abaami b'ebitongole abaaweerezanga kabaka mu mpalo, abaduumizi b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abawanika b'ebintu byonna eby'obugagga ebya kabaka, batabani be, wamu n'abaami n'abasajja bonna ab'amaanyi, era abazira e Yerusaalemi. Awo Dawudi kabaka n'ayimirira ku bigere bye n'ayogera nti, “Mumpulire, baganda bange era abantu bange; nze kyali mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'entebe y'ebigere eya Katonda waffe ennyumba ey'okuwummuliramu; era nali ntegese okuzimba. Naye Katonda n'aŋŋamba nti,‘Tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga ggwe oli musajja mulwanyi wa ntalo, era wayiwa omusaayi mungi.’ Naye Mukama Katonda wa Isiraeri yannonda ng'anzijja mu nnyumba yonna eya kitange okuba kabaka wa Isiraeri emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okuba omulangira; ne mu nnyumba ya Yuda n'alondamu ennyumba ya kitange; ne mu baana bakitange n'ansanyukira nze okunfuula kabaka wa Isiraeri yenna: ne ku batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde abaana bangi, n'alondamu Sulemaani mutabani wange okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Mukama okufuga Isiraeri. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo ye alizimba ennyumba yange n'empya zange, kubanga nnamulonda okuba mutabani wange, nange n'abanga kitaawe. Era nnaanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyiikiranga okugonderanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga bw'akola kaakano.’ Kale nno mu maaso ga Isiraeri yenna, Mukama gw'akkuŋŋaanyizza, mbakuutira era nga ne Katonda waffe awulira, mukwatenga era mugonderenga ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda wammwe: mulye ensi eno ennungi era mugirekere abaana bammwe, n'abanabaddiriranga okuba obusika bwabwe emirembe gyonna. Naawe, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima ogutuukiridde n'emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw'ebirowoozo: bw'onoomunoonyanga, anaalabikanga gy'oli; naye bw'onoomuvangako, anaakwabuliranga emirembe gyonna. Weekuume nno; kubanga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'ekigwa: ba n'amaanyi, okukikolanga.” Awo Dawudi n'awa Sulemaani mutabani we ekifaananyi ky'Ennyumba ya Katonda, nga bweribeera: ekisasi kyakwo, n'ennyumba zaakwo, n'amawanika gaakwo, n'enju zaakwo eza waggulu n'ebisenge byakwo eby'omunda n'ekifo eky'entebe ey'okusaasira. N'amuwa n'ekifaananyi ky'ebyo byonna bye yalina ku mwoyo, bye yali alowoozezza eby'empya ez'ennyumba ya Mukama n'ebisenge byonna ebyetoolodde n'amawanika g'ennyumba ya Katonda n'amawanika g'ebintu ebiwongebwa: era n'amuwa n'entegeka zonna ez'empalo za bakabona n'Abaleevi n'eby'omulimu gwonna ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, n'eby'ebintu byonna ebikozesebwa mu nnyumba ya Mukama. Era n'alagira obuzito bwa zaabu ne ffeeza epimibwa, obw'okukozesa ebintu byonna ebya zaabu, n'ebya ffeeza ebikozesebwa ku buli mulimu ogw'okuweereza: era n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza zaabu era n'obwettaala zaakyo, n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza ffeeza n'obwettaala zaabyo, okusinziira nga bwe bikozesebwa ku mulimu gwakyo ogw'okuweereza okwa buli kikondo: n'obuzito bwa zaabu ow'okukolamu buli mmeeza ez'emigaati egy'okulaga, egiweebwayo eri Katonda, n'obuzito obwa ffeeza ow'okukolamu emmeeza, eza ffeeza. Okwo ssaako zaabu omuyooyoote ow'okukolamu ebyuma eby'okukwasa ennyama, n'ow'okukolamu ebibya n'ebikompe ebya zaabu ennungi: era okwo ssaako n'obuzito bwa zaabu ne ffeeza ow'okukolamu ebbakuli n'ensaniya eza zaabu, n'eza ffeeza. Era n'alagira n'obuzito bwa zaabu omulongoose ow'okukolamu ekyoto eky'okwotereezaako obubaane; era n'obuzito bwa zaabu ow'okukolamu eggaali, eriko bakerubi abanjuluza ebiwawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey'endagaano ya Mukama. Ebyo byonna, Dawudi, bye yayogera nabibategeeza nga biri mu buwandiike, era nga by'esigamiziddwa ku biragiro Mukama, yennyini bye yamulagira okutuukiriza. Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n'amaanyi, ogume omwoyo, okikolenga; totyanga so totekemukanga, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe; taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira. Era, laba, bakabona n'Abaleevi baweereddwa empalo olw'okuweereza kwonna okw'omu nnyumba ya Katonda: era abakozi abakugu abamanyi okukola buli mulimu, weebali abeetegese okukuyamba; era n'abaami n'abantu bonna banaagonderanga ddala okulagira kwo.” Dawudi kabaka n'agamba ekibiina kyonna nti, “Sulemaani mutabani wange Katonda gw'alonze yekka akyali mwana muto, n'omulimu munene: kubanga ennyumba egenda okuzimbibwa si ya bantu naye ya Mukama Katonda. Nze nno ntegekedde ennyumba ya Katonda wange n'amaanyi gange gonna zaabu ey'ebintu ebya zaabu, ne ffeeza ey'ebintu ebya ffeeza, ebikomo ne byuma, n'emiti egy'ebintu eby'emiti; amayinja aga onuku n'amayinja ag'okutona, amayinja ag'omulimu ogw'enjola n'ag'amabala mangi, n'amayinja ag'omuwendo omungi ag'engeri zonna, n'amayinja amanyirivu mangi nnyo. Era nate kubanga ntadde okwagala kwange ku nnyumba ya Katonda wange, kubanga nnina obugagga bwange ku bwange obwa zaabu ne ffeeza, mbuwa ennyumba ya Katonda wange, okusukkiriza byonna bye ntegekedde ennyumba entukuvu; mpaddeyo talanta eza zaabu enkumi ssatu (3,000), zaabu ya Ofiri, ne talanta eza ffeeza eyalongoosebwa kasanvu (7,000), okubikka ku bisenge by'ennyumba, n'okukolamu ebintu byonna ebya zaabu, n'ebya ffeeza, abafundi bye balikola. Kale kaakano ani omulala awaayo ku bubwe okwewonga leero eri Mukama?” Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe n'abakulu b'ebika bya Isiraeri n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi wamu n'abalabirizi b'emirimu gya kabaka, ne bawaayo ku bwabwe; ne bawaayo olw'omulimu ogw'Ennyumba ya Katonda: zaabu talanta enkumi ttaano (5,000) ne daliki omutwalo gumu (10,000), ne ffeeza talanta omutwalo gumu (10,000), n'ebikomo talanta omutwalo gumu mu kanaana (18,000), n'ebyuma talanta kasiriivu (100,000). N'abo abaalabika nga balina amayinja ag'omuwendo omungi ne bagawaayo mu ggwanika ery'Ennyumba ya Mukama eryali lirabirirwa Yekyeri Omugerusoni. Awo abantu bonna ne basanyuka kubanga baawaayo ku byabwe, eri Mukama, nga beeyagalidde n'omutima ogutuukiridde; era ne Dawudi kabaka n'asanyuka nnyo. Dawudi kyeyava yeebaliza Mukama mu maaso g'ekibiina kyonna; Dawudi n'ayogera nti, “Weebazibwe, ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri jjajjaffe, emirembe n'emirembe. Obukulu bubwo n'amaanyi n'ekitiibwa n'okuwangula n'okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi bibyo; obwakabaka bubwo, ayi Mukama, era ogulumizibwa okuba Kabaka asukkulumye era akulira ebintu byonna. Obugagga era n'ekitiibwa biva gyoli, era ggwe ofuga bonna; era mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi; era mu mukono gwo mwe muli okukuza n'okuwa bonna amaanyi. Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo ery'ekitiibwa. Naye nze ani n'abantu bange kye ki, ffe okuyinza okuwaayo bwe tutyo ku bwaffe ddala? Kubanga byonna biva gyoli, era tukuwadde ku bibyo. Kubanga ffe tuli bagenyi mu maaso go era batambuze nga bajjajjaffe bonna bwe baali: ennaku zaffe ez'oku nsi ziri ng'ekisiikirize, so si za lubeerera. Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira ennyumba enaweesa erinnya lyo ettukuvu ekitiibwa biva mu mukono gwo, era byonna bibyo. Era mmanyi, Katonda wange, nga ggwe okebera mutima era osanyukira amazima. Nze, nga nnina omutima ogw'amazima, mpaddeyo ku bwange bino byonna: era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo ku bwabwe gyoli ne nsanyuka. Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Isiraeri, bajjajjaffe, onyweze kino mu kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gw'abantu bo, oteeketeeke omutima gwabwe gyoli: era ow'e Sulemaani mutabani wange omutima ogutuukiridde okukwata ebiragiro byo, n'ebyo bye wategeeza, n'amateeka go, n'okukola ebyo byonna, n'okuzimba ennyumba eno gye ntegekedde ebintu.” Dawudi n'agamba ekibiina kyonna nti, “Kaakano mwebaze Mukama Katonda wammwe.” Ekibiina kyonna ne beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama ne kabaka. Ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. Ku lunaku olwaddirira, ne bawaayo: ente lukumi (1,000), endiga ennume lukumi (1,000), n'endiga ento lukumi (1,000), n'ebiweebwayo byakwo eby'okunywa, ne ssaddaaka nnyingi nnyo olwa Isiraeri yenna; ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama, ku lunaku olwo ne basanyuka nnyo. Ne bafuula Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka omulundi ogwokubiri, ne bamufukako amafuta okubafuganga mu linnya lya Mukama ne Zadoki okuba kabona. Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, Mukama gye yateekawo, n'aba Kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'alaba omukisa; Isiraeri yenna ne bamugondera. Abakulu bonna n'abasajja ab'amaanyi era ne batabani ba Dawudi kabaka bonna ne bagondera Sulemaani kabaka. Mukama n'agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isiraeri yenna era n'amuwa ekitiibwa eky'obwakabaka ekitalabwanga ku kabaka yenna eyamusooka mu Isiraeri. Era Dawudi mutabani wa Yese yafuga Isiraeri yenna. N'ebiro bye yafugira Isiraeri byali emyaka ana (40). Yafugira emyaka musanvu (7) e Kebbulooni, era yafugira emyaka asatu mu esatu (33) mu Yerusaalemi. N'afa ng'akaddiye bulungi, ng'awangadde era nga agaggawadde, nga alina n'ekitiibwa. Sulemaani mutabani we n'amusikira ku bwakabaka. Era ebikolwa bya Dawudi kabaka, ebyasooka n'ebyeyamalirako, laba, byonna byawandiikibwa mu biwandiiko bya Samwiri omulabi ne mu biwandiiko bya Nasani nnabbi ne mu biwandiiko bya Gaadi omulabi. Ebiwandiiko ebyo biraga okufuga kwe kwonna n'amaanyi ge n'ebintu byonna ebyamutuukako n'ebyatuuka ku Isiraeri, n'amatwale gonna ag'ensi ezeetooloddewo. Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali naye, n'amugulumiza nnyo. Sulemaani n'ayogera na ba Isiraeri bonna: abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abalamuzi na buli mukulembeze mu Isiraeri yenna, na bakulu be nnyumba za bajjajjaabwe. Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna ekyo ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakolera mu ddungu. Naye essanduuko ya Katonda yali mu Yerusaalemi ng'eteekedwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya e Kiriyasuyalimu kubanga yali agisimbidde eweema e Yerusaalemi. Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleeri, mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama, n'ekibiina kyonna n'ekigendanga gye kiri. Sulemaani n'agenda eri ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga weema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi. Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, mu kirooto n'amugamba nti, “Saba kye mba nkuwa.” Sulemaani n'agamba Katonda nti, “Olazze Dawudi kitange ekisa kingi, bwonfudde kabaka mu kifo kye. Kale, ayi Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abali ng'enfuufu ey'oku nsi obungi. N'olwekyo mpa nno amagezi n'okumanya, nsobole okukulemberanga abantu bano bonna: kubanga ani ayinza okufuga abantu bo bano abenkanidde awo obungi?” Katonda n'agamba Sulemaani nti, “Ekyo kyosabye kirungi, so towesaabidde bugagga oba ebintu, wadde ekitiibwa, newakubadde okuzikiriza abo abakukyawa, so towesabidde kuwangaala, naye weesabidde amagezi n'okumanya, osobolenga okufuga abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe, amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa ebitabanga n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba n'oluvannyuma lwo mulala aliba nabyo.” Awo Sulemaani n'ava e Gibyoni, awali Weema ey'okusisinkanirangamu, n'akomawo mu Yerusaalemi, n'afugira eyo Isiraeri. Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi, n'aba n'amagaali lukumi mu bina (1,400) n'abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), n'abateeka mu bibuga eby'amagaali ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga. Mu biseera bye ffeeza ne zaabu byayala mu Yerusaalemi ne biba bingi ng'amayinja obungi. N'emivule ne giba mingi ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi. Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri ne Kulikiya. Abasuubuzi bakabaka baazigulanga Kulikiya ng'ebbeeyi yaazo bwe yabanga. Amagaali baagaggyanga mu Misiri nga buli kigaali kigula sekeri lukaaga (600) eza ffeeza, ate embalaasi ng'egula sekeri kikumi mu ataano (150) eza ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga ne baziguza bakabaka b'Abakiiti n'Abasuuli. Awo Sulemaani n'ateekateeka okuzimbira Mukama ennyumba, ate naye okwezimbira olubiri. Sulemaani n'alonda abasajja emitwalo musanvu (70,000) ab'okwetikkanga eby'okuzimbisa, n'abasajja emitwalo munaana (80,000) ab'okwasanga amayinja ku nsozi, n'abasajja enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) okulabiriranga omulimu. Sulemaani n'aweereza Kulamu kabaka w'e Ttuulo obubaka buno nti, “Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange n'omuweereza emivule okwezimbira ennyumba okubeera omwo, bw'otyo bw'oba okola nange. Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange ennyumba, era n'okugiwonga eri ye, olw'okwoterezayo obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'okuweerayo emigaati egya buli kiseera, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Ssabbiiti ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi ne ku mbaga endala ezaateekebwawo Mukama Katonda waffe, nga bwe yalagira Isiraeri okukolanga emirembe gyonna. N'ennyumba gye nteekateeka okuzimba nnene: kubanga Katonda waffe mukulu okusinga bakatonda bonna. Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga n'eggulu lyennyini erya waggulu taligyamu? Nze nno nze ani okumuzimbira ennyumba ey'okwoterezamu obubaane mu maaso ge? Kale nno, mpeereza omusajja omumanyirivu asobola okuweesa ebya zaabu, ne bya ffeeza n'eby'ekikomo n'eby'ekyuma, ate era asobola okuluka engoye ez'effulungu, n'entwakaavu, ne za kaniki, ate amanyi okusala amayinja ag'enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka. Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abasajja bange banaakolera wamu n'ababo, okunteekerateekera emiti emingi: kubanga ennyumba gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba nnene ddala. Nja kuwa basajja bo abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule emitwalo ebiri (20,000) n'ebigero ebya sayiri emitwalo ebiri (20,000), n'ebita eby'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri (20,000) n'ebita eby'amafuta ag'Omuzeyituuni emitwalo ebiri (20,000).” Awo Kulamu kabaka w'e Ttuulo n'awandiikira Sulemaani ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe. Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, alina amagezi n'okumanya, ateeseteese okuzimbira Mukama ennyumba, n'okwezimbira olubiri. Kale Kaakano nno nkuweereza omusajja omumanyirivu ayitibwa Kulamu. Nnyina y'omu ku bazzukulu ba Ddaani, ne kitaawe yali mutuuze w'e Ttuulo. Mumanyirivu mu kukola omulimu ogwa zaabu, ogwa ffeeza, ogw'ebikomo, ogw'ebyuma, ogw'amayinja, ogw'emiti, ogw'engoye ez'effulungu, eza kaniki, eza bafuta ennungi ne z'engoye entwakaavu. Era mumanyirivu mu kwola enjola ez'engeri zonna, era asobola okuyiiya engeri yonna ku kintu kyonna ekimuweereddwa okukola. Mukuweereza akolere wamu n'abasajja bo ab'amagezi era n'abo aba mukama wange, Dawudi kitaawo. Kale nno, tuweereze eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye wasuubiza. Naffe tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunagiseeyeereza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe eyo gyoligiggya okugitwala e Yerusaalemi.” Awo Sulemaani n'abala bannamawanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri, nga ne Dawudi kitaawe bwe yababala: omuwendo gwabwe bonna baali emitwalo kkumi n'etaano mu enkumi ssatu mu lukaaga (153,600). N'alonda kubo abantu emitwalo musanvu (70,000) okuba abeetissi be by'okuzimbisa, n'abalala emitwalo munaana (80,000) okwasanga amayinja ku nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) n'abateekawo okulabiriranga abaakolanga emirimu. Awo Sulemaani n'atandika okuzimba ennyumba ya Mukama e Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe. Dawudi yali akiteeseteese olw'ennyumba ya Mukama. Ekifo ekyo kyali gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. Sulemaani yatandika okuzimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw'okufuga kwe. Ennyumba ya Mukama Sulemaani gye yapima yali ya mikono nkaaga (60) obuwanvu ne mikono abiri (20) obugazi. Ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, ekipimo kyakyo kyali kya bugazi bwa mikono abiri (20) ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali, n'obugulumivu bwakyo emikono kikumi mu abiri (120). Ekisenge kyakyo munda y'akibikkako zaabu omulongoose. Ekisenge ekinene y'akibikkako embaawo ez'emiberosi, ze yabikkako zaabu omulongoose, n'akolako ebifaananyi eby'enkindu n'emikuufu. Nayooyoota ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi ne zaabu yaggyibwa e Paluvayimu. Ebisenge by'ennyumba, emirabba gyayo, n'emiryango n'abibikkako zaabu. Ku bisenge n'akolako bakerubi. N'azimba ekifo eky'omunda Ekitukuvu Ennyo, ng'obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bw'ennyumba: emikono abiri (20). N'akibikkako zaabu omulongoose aweza talanta lukaaga (600). Obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu ataano (50). Ekisenge ekya waggulu nakyo n'akibikkako zaabu. Mu kifo Ekitukuvu Ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'ekyuma ne bababikkako zaabu. Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi obuwanvu bwabyo bwali emikono abiri (20), ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro kye eky'okubiri nakyo bwe kityo nga kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne. Ekiwawaatiro kya kerubi omulala nakyo kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka nakyo ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro kye ekirala nakyo nga kiweza emikono etaano, era nga nakyo kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne. Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi nga byanjuluziddwa byali biweza emikono abiri (20). Baali bayimiridde ku bigere byabwe, nga batunuulidde wakati mu ennyumba. N'akola eggigi mu lugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olutwakaavu ne mu bafuta ennungi, n'alikolerako bakerubi. Mu maaso g'ennyumba n'assaawo empagi bbiri, obugulumivu bwazo, emikono asatu mu etaano (35), era nga buli emu eriko omutwe gwa buwanvu bwa mikono etaano. Ku ntiko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi by'emikuufu ne by'amakomamawanga ag'ekikomo kikumi (100) n'agateeka ku mikuufu. N'asimba empagi ezo mu maaso ga Yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'ey'oku mukono gwa kkono n'agituuma Bowaazi. Kabaka Sulemaani n'akola ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono abiri (20), n'obugazi bwakyo emikono abiri (20), n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi (10). Era n'akola ne Tanka ennene enneekulungirivu ey'ekikomo ng'eweza emikono kkumi (10) okuva ku mugo okutuuka ku mugo, n'obugulumivu bwayo emikono etaano; obwetooloovu bwo mugo gwayo nga buweza emikono asatu (30). Okwetooloola omugo ebweru wagwo gwaliko embu bbiri ez'ebifaananyi by'ente, nga byaweesebwa wamu nagwo. Etanka eyo yatuuzibwa ku bifaananyi by'ente eby'ekikomo kkumi na bbiri (12), ebisatu nga bitunuudde obukiikakkono, ebisatu ebirala nga bitunuudde ebugwanjuba, ebisatu ebirala nga bitunuudde obukiikaddyo, n'ebisatu ebirala nga bitunuulidde ebuvanjuba. Etanka yatuula ku zo waggulu, nga emikira gyabyo gyonna gitunuudde munda. Omubiri gwa Tanka gwali guweza oluta lumu. Omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, era nga gweyanjuluza ng'ekimuli kyamalanga. Etanka nga egendamu ensuwa za mazzi enkumi ssatu (3,000). Era n'akola ebbenseni kkumi (10) ez'okwolezaangamu: etaano n'aziteeka ku mukono ogwa ddyo ogwa Yeekaalu, n'etaano ku gwa kkono, ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye amazzi g'omu Tanka gaali ga bakabona ag'okunaaba. N'akola ebikondo by'ettaala kkumi bya zaabu, nga bwe byali biteekwa okukolebwa n'abiteeka mu Yeekaalu: ebitaano ku mukono ogwa ddyo n'ebitaano ebirala ku gwa kkono. Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu Yeekaalu: etaano n'aziteeka ku luuyi olwa ddyo n'etaano endala ku lwa kkono. N'akola n'ebibya kikumi (100) bya zaabu. Era n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, enzigi zaazo n'azibikkako ekikomo. N'ateeka etanka ennene ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo olw'ebuvanjuba. Kulamu n'akola entamu n'ebijiiko n'ebibya. Awo Kulamu n'amaliriza okukola omulimu gw'ennyumba ya Katonda ogw'amuweebwa kabaka Sulemaani: empagi bbiri, n'emitwe ebiri egikoleddwa ng'ebibya ku ntikko z'empagi; n'ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko ya buli empagi; amakomamawanga bina (400) ag'ekikomo agateekeddwa mu mbu bbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi. N'akola ebituuti kkumi (10), n'ebbenseni ku bituuti ebyo, etanka ennene, n'ente kkumi na bbiri (12) kweyatuuzibwa; entamu, n'ebijiiko, n'amakato ge bakwasisa ennyama. Kulamu n'akolera Sulemaani ebintu byonna ebyo mu kikomo ekizigule eby'okukozesanga mu nnyumba ya Mukama. Ebintu ebyo byonna kabaka yabikolera mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda. Sulemaani n'akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo, n'obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa tebwategeerekeka. Sulemaani n'akola ebintu byonna eby'okukozesanga mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwateekebwanga emigaati egy'okulaga; n'ebikondo n'ettaala zaabyo, mu zaabu omulongoose, zaakirenga mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu ng'ekiragiro bwe kyali; n'ebitimbibwa ebikoleddwa ng'ebimuli, ne ttaala, ne makansi, nga bya zaabu omulungi ennyo; n'ebisalako ebisiriiza, n'ebibya, n'ebijiiko, n'essowaani nga bya zaabu omulongoose. Enzigi z'ennyumba ez'ebweru, n'enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo Ekitukuvu Ennyo nazo zaali za zaabu. Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna ogw'okuzimba ennyumba ya Mukama. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga: effeeza ne zaabu, n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda. Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri, n'abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abaana ba Isiraeri, bagende e Yerusaalemi, ba ggyeyo essanduuko ey'endagaano ya Mukama okuva mu kibuga kya Dawudi Sayuuni. Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira ewa kabaka, ku mbaga ey'Ensiisira mu mwezi ogw'omusanvu. Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, Abaleevi ne basitula essanduuko. Ne bagireeta, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu bakabona n'Abaleevi ne babisitula. Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna enkya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne babeera mu maaso g'essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez'endiga n'ente, nnyingi nnyo ezitaabalibwa muwendo. Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, munda mu nnyumba, mu kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi. Ebiwaawaatiro bya bakerubi ebyayanjala ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo. Emisituliro gyayo gyali miwanvu ng'omuntu ayimiridde munda mu Yeekaalu mu maaso g'ekifo Ekitukuvu Ennyo asobola okulaba emisa gyazo, naye ng'ali ebweru tagiraba. Ekyali eyo ne leero. Mu Ssanduuko temwali kintu kirala wabula ebipande ebibiri, Musa bye yateeka omwo bwe yali ku lusozi Kolebu, Mukama gye yalagaanira endagaano n'abaana ba Isiraeri, nga bavudde mu Misiri. Bakabona bonna, awatali kufa ku mpalo zaabwe, baali beetukuzizza, ne bava mu kifo Ekitukuvu. Abaleevi bonna abayimbi: Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, nga bali ne bakabona kikumi mu abiri (120) nga bafuuwa amakkondeere. Awo olwatuuka ab'ebivuga n'abayimbi ne bakwanya wamu amaloboozi, nga batendereza, nga beebaza Mukama. Ne basaakaanyiza wamu amaloboozi gaabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga bagamba nti, “Mukama mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo ennyumba ya Mukama n'ejjula ekire, bakabona ne batasobola kusigalamu okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula ennyumba ya Katonda. Awo Sulemaani n'asaba ng'agamba nti, “Mukama wasalawo okutuulanga mu kizikiza ekikutte. Naye nze nkuzimbidde ennyumba ey'okubeeramu, ekifo ky'onoobeerangamu emirembe gyonna.” Awo kabaka n'akyuka n'atunuulira ekibiina kyonna ekya Isiraeri, ekyali kiyimiridde awo n'abasabira omukisa. N'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isiraeri, atuukiriza ekyo kye yasuubiza Dawudi kitange, bwe yamugamba nti, ‘kasookedde nzigya bantu bange mu nsi y'e Misiri, sirondanga kibuga na kimu kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri, okuzimbira omwo ennyumba, nange mbeerenga omwo, so sirondanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri. naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu erinnya lyange; era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isiraeri.’ Kale kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba. Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti, ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira ennyumba. Naye si gwe ojja okunzimbira ennyumba, wabula mutabani wo ggwe wennyini gw'ozaala y'alizimbira ennyumba.’ Era Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nze nsikidde kitange Dawudi, era ntudde ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba. Era ntadde omwo essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yakola n'abaana ba Isiraeri.” Awo Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kiri awo, n'agolola emikono gye. kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, ng'akitadde wakati mu luggya. N'alinnya waggulu ku kituuti ekyo, n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu. n'ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; atuukiriza endagaano ye era akwatirwa ekisa abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna. Otuukiriza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kye wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza olwaleero. Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza ekyo kye wasuubiza omuddu, Dawudi kitange, bwe wamugamba nti, ‘tewaabulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri, abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, ne batambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwo gatambuliddemu mu maaso gange.’ Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, kye wagamba omuddu wo Dawudi. Naye mazima ddala, Katonda oyinza okutuula n'abantu mu nsi? Laba, eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye oyinza otya ggwe okugiggyamu? Naye ayi Mukama Katonda wange, wulira okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, kw'asaba mu maaso go: amaaso go gatunuulirenga ennyumba eno emisana n'ekiro, ekifo kye wayogerako ng'oliteeka omwo Erinnya lyo. Kale owulirenga okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'otunuulira ekifo kino. Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino: wuliranga ggwe ng'osinzira ggulu, mu kifo kyo ky'obeeramu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga. Omuntu bw'anaasobyanga ku munne, ne kimugwanira okulayira okukakasa oba nga talina musango, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno: kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, n'olamula abaddu bo, n'obonereza asobeza, ne wejjeereza atalina musango. Abantu bo Isiraeri bwe banaawangulwanga abalabe baabwe, kubanga bakwonoonye naye ne bakyuka nate ne beenenya, ne basaba ne beegayirira mu maaso go mu nnyumba eno: kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga okwonoona kw'abantu bo Isiraeri, obakomyangawo nate mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe. Eggulu bwe linaggalwangawo, enkuba n'etetonnya, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, ng'omaze okubabonereza: kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo, abantu bo Isiraeri, n'obayigiriza ekkubo eggolokofu lye bateekwa okutambulirangamu, olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo, gye wawa abantu bo okuba obusika bwabwe emirembe gyonna. Bwe wanaagwanga enjala mu nsi, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala, bukuku, enzige oba kawuka ku birime; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu bibuga byabwe; bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okw'engeri yonna; bwe wanaabangawo okusaba oba okwegayirira kwonna okunaakolwanga omuntu yenna, oba okw'abantu bo bonna Isiraeri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze ng'atunuulidde ennyumba eno: kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu n'osonyiwa, era n'osasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe, ggwe wekka omanyi emitima gy'abaana b'abantu; balyoke bakutyenga era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe. Era mu ngeri y'emu munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala, ng'awulidde obukulu bwo, n'obuyinza bwo, n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'asaba nga atunuulidde ennyumba eno; owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo n'okolera munnaggwanga oyo byonna byakusabye, olwo amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, era bakutye ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye ya kukusinzizangamu. Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe yonna gy'onobasindikanga, ne bakusaba nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo: kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe n'obalwanirira. Bwe banaakwonoonanga, kubanga tewali muntu atayonoona, n'obasunguwalira, n'oleka abalabe baabwe okubawangula n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'ewala oba ey'okumpi; naye bwe beennyamiriranga mu mitima gyabwe mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakyuka ne beenenya, ne bakwegayiririra mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona ne tukuvako ne tukola ebitasaana;’ bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna nga bali mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakusaba nga batunuulidde ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, n'ekibuga kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo; kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu n'obaddiramu, n'osonyiwa bantu bo abakwonoonye. Kale, ayi Katonda wange, nkwegayiridde amaaso go gatunuulenga n'amatu go gawulirenga okusaba okunaasabirwanga mu kifo kino. Kale nno, ayi Mukama Katonda, situka ojje oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ayi Mukama Katonda, bawe omukisa, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi. Ayi Mukama Katonda, tolekanga oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okwagala kwo eri Dawudi omuddu wo.” Awo Sulemaani bwe yamala okusaba omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba. Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kijjudde mu nnyumba ya Mukama. Awo abaana ba Isiraeri bonna bwe balaba omuliro nga gukka, n'ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde mu Yeekaalu, ne bavuunama ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti, “mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaaayo ssaddaaka eri Mukama. Kabaka Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ente ezawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000), n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri (120,000). Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaayo ennyumba eri Katonda. Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n'Abaleevi nabo ne bayimirira nga babatunuulidde, nga bakutte ebivuga Dawudi kabaka bye yakola okutenderezanga Mukama, ne bayimba oluyimba lwa Dawudi olw'okutendereza Mukama nga bagamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Bakabona ne bafuuwa amakkondeere nga Abaisiraeri bonna bayimiridde. Sulemaani n'atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe: kubanga ekyoto eky'ekikomo Sulemaani kye yali akoze kyali tekigyako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu. Mu kiseera ekyo, Sulemaani n'Abaisraeri bonna ne bakwata embaga ey'ennaku musanvu, ekibiina kyali ekinene nnyo, abantu baava awayingirirwa e Kamasi okutuukira ddala ku kagga ak'e Misiri. Awo ku lunaku olw'omunaana ne baba n'okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga baali bamaze okukwata ennaku musanvu ez'okuwaayo ekyoto, n'okukwata ennaku endala musanvu ez'embaga. Ku lunaku olw'abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu, Sulemaani n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe, nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be. Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, era ng'amaliriza okuteekamu byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okuteeka mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye, Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo era nzikiriza ekifo kino okuba ennyumba yange ey'okumpeerangamu ssaddaaka. Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange; abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale nnaawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe. Kale amaaso gange ganaazibukanga n'amatu gange ganaawuliranga okusaba okunaasabibwanga mu kifo kino. Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga ku yo ebbanga lyonna. Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'ebiragiro byange; kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti, ‘Tewaabulenga musajja okuva muzzadde lyo afuga Isiraeri.’ Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mu basinza: awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'Erinnya lyange ndigisaanyaawo, era ndigifuula olufumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna. N'ennyumba eno ey'ekitiibwa ennyo, buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti,‘ Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno?’ Kale banaddangamu nti, ‘Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza: kyeyava abatuusako obubi buno bwonna.’ ” Awo olwatuuka emyaka abiri (20) bwe gyaggwako, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye, Sulemaani n'azimba buggya ebibuga, Kulamu bye yamuwa, n'atuuza omwo abaana ba Isiraeri. Awo Sulemaani n'alumba ekitundu ky'e Kamasizoba n'akiwamba. N'azimba ekibuga Tadumoli mu ddungu. N'azimba mu Kamasi ebibuga byonna, n'abifuula eby'okuterekangamu ebintu bye. Era n'azimba ebibuga Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, n'abiteekako bbugwe n'enzigi n'ebisiba; n'azimba ne Baalasi n'ebibuga byonna eby'okuterekangamu ebintu bye yalina, n'ebibuga byonna bye yakuumirangamu amagaali ge n'ebibuga ebyabeerangamu abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni n'awalala wonna mu matwale ge. Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi, n'Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri; abataazikirizibwa abaana ba Isiraeri nga bawamba ensi ya Kanani, ku bazzukulu baabwe Sulemaani mwe yajjanga abaddu ne leero. Naye ku baana ba Isiraeri, Sulemaani teyafuulako baddu ba kukola mirimu gye, wabula baali basajja balwanyi mu ntalo, bakulu ba maggye, abakulira abavuzi b'amagaali ge, n'abasajja abeebagala embalaasi ze Kabaka Sulemaani yalina abaami abakulu bibiri mu ataano (250) abaafuganga abantu. Awo Sulemaani n'aggya mukazi we, muwala wa Falaawo, mu kibuga kya Dawudi, n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira, kubanga yagamba nti, “Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumba ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ekifo kyonna ekyatuukibwamu essanduuko ya Mukama kitukuvu.” Awo Sulemaani n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso Yeekaalu. Yabiwangayo nga bwe kyetaagibwanga buli lunaku, ng'awaayo ng'Amateeka ga Musa bwe galagira okubiwaayo ku Ssabbiiti, ne mu kuboneka kwa buli mwezi, ne ku mbaga esatu ezaalagirwa buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, ku mbaga ey'Amakungula, ne ku mbaga ey'ensiisira. Sulemaani nnakola nga Dawudi kitaawe bwe yalagira, n'ateekawo empalo za bakabona ez'okuweereza kwabwe, n'ez'Abaleevi ze bakolerangako omulimu gwabwe ogw'okuyimba, n'okuweereza nga bayamba bakabona, nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku. N'ateekawo n'abakuumi b'Emiryango mu mpalo ku buli mulyango. Bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira. Bakabona n'Abaleevi tebaava ku kiragiro kya kabaka Dawudi ekikwata ku kintu kyonna oba ku bintu ebyaterekebwa. Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna, okuviira ddala ku lunaku lwe baasima omusingi gw'Ennyumba ya Mukama, okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyumba ya Mukama n'emalirizibwa. Awo Sulemaani n'agenda e Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku lubalama ly'ennyanja, mu nsi ya Edomu. Kulamu n'amuweereza amaato n'abalunnyanja. Ne bagenda wamu n'abaweereza ba Sulemaani e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta bina mu ataano (450), ne bamuleeta eri kabaka Sulemaani. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja e Yerusaalemi amugeze, ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu, yajja n'abaddu bangi nnyo, n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka ewa Sulemaani, n'amubuuza ebyo byonna bye yalina ku mutima gwe. Awo Sulemaani n'amuddamu byonna bye yamubuuza: tewali kintu na kimu ekyakaluubirirwa Sulemaani okumunnyonnyola. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba, n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, n'ennyambala yaabwe, n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe yalinnyangako okugenda mu nnyumba ya Mukama; kale ne yeewuunya nnyo, n'awuniikirira. N'agamba kabaka nti, “Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange ku bikolwa byo n'amagezi go, kyali kituufu. Nange sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'amaaso gange. Byenawulira tebyenkana wadde ekimu eky'okubiri eky'amagezi go, osinga ettutumo lye nnawulira. Abasajja bo nga balina omukisa, abaddu bo bano nga beesiimye, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira eby'amagezi by'oyogera. Mukama Katonda wo atenderezebwe, eyakusiima naakuteeka ku ntebe okuba kabaka ofuge mu linnya lye, kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri, abantu be, era ayagala okubakuuma babeerewo ennaku zonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okuume amateeka n'amazima.” Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri (120), n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: era tewaabaawo bya kaloosa eby'enkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Sebba bye yatonera kabaka Sulemaani. Era n'abaddu ba Kulamu n'abaddu ba Sulemaani abaaleeta zaabu okuva e Ofiri, ne baleeta embaawo ez'emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi. Kabaka n'akozesa embaawo ez'emitoogo okuzimba amadaala g'ennyumba ya Mukama, n'ennyumba ya kabaka, era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Waali tewalabikanga bintu biringa ebyo mu Yuda. Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, na buli kye yasaba kyonna, nga tobaliddeeko ebyo ye bye yamuwa olw'ebirabo naye bye yali amutonedde. Awo kabaka omukazi n'abaddu be ne baddayo mu nsi y'ewaabwe. Zaabu Sulemaani gwe yafunanga mu mwaka ogumu yawezanga obuzito talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666), nga tobaliddeeko oyo abasuubuzi n'empooza ku bitundibwa gwe baaleetanga. Bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abafuzi b'ebitundu bya Isiraeri, nabo ne baleeteranga Sulemaani zaabu n'effeeza. Kabaka Sulemaani n'aweesa engabo ennene bibiri (200) mu zaabu, nga buli emu ya zaabu aweza sekeri lukaaga (600). Era n'aweesa engabo entono bisatu (300) mu zaabu, nga buli ngabo ya zaabu wa sekeri bisatu (300). Kabaka zonna n'aziteeka kisenge ekiyitibwa, Ekibira kya Lebanooni. Kabaka era n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ey'amasanga, n'agibikkako zaabu omulungi ennyo. Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe, ekirinnyibwako ebigere kyali kya zaabu, era nga kisibiddwa ku yo. Entebe era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi, era ku buli ludda lw'awateekebwa omukono, ku mabbali waaliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde. N'ebifaananyi by'empologoma eziyimiridde ebirala kkumi na bbiri, byali biteekeddwa eruuyi n'eruuyi ku buli nkomerero ya madaala ago omukaaga. Waali tewabangawo ntebe yonna ya kabaka efaanana ng'eno. Ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoose. Mu biseera bya Sulemaani, ffeeza teyatwalibwanga nga ekintu eky'omuwendo. Kabaka yalina empingu y'amaato eyaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; empingu yakomangawo mulundi gumu buli myaka esatu ng'ereese zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne zimuzinge. Bwatyo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi. Bakabaka bonna ku nsi bajjanga okulaba Sulemaani, okuwulira amagezi ge Katonda ge yali amuwadde. Buli muntu eyajjanga gyali buli mwaka ng'amuleetera ekirabo: ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, ebyambalo n'eby'okulwanyisa, n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu. Era Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya (4,000) eby'embalaasi n'amagaali gaazo, abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), be yateeka mu bibuga eby'amagaali, abamu kubo nga babeera naye mu Yerusaalemi. Era yafuga bakabaka bonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, ne ku nsalo eya Misiri. Mu biseera bye Kabaka y'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule olw'obungi bwagyo n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu bya Yuda. Ne baleeteranga Sulemaani embalaasi nga baziggya mu Misiri ne mu nsi zonna. Ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu byalangibwa Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi era kwali kukwata ne ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati. Sulemaani yafugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi emyaka ana. (40) Sulemaani naafa n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Lekobowaamu mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Awo Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyali adduse Sulemaani n'agenda e Misiri bwe yakiwulira n'ava mu Misiri n'akomawo. Awo ne bamutumira, Yerobowaamu ne Isiraeri yenna ne bagenda eri Lekobowaamu ne bamugamba nti, “Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe bwonowewula ku buzito obwo, n'otukendereza ku kikoligo ekyo kye yatuteekako, naffe tunaakuweerezanga.” Lekobowaamu n'abaddamu nti, “Mumpeeyo ennaku ssatu ndowooze ku nsonga eyo, mulyoke mukomewo gye ndi nate.” Abantu ne bagenda. Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaawanga Sulemaani kitaawe amagezi ng'akyali mulamu, n'ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okubaddamu abantu bano?” Ne bamuddamu nti, “ Bw'onoobera ow'ekisa eri abantu bano, n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, nabo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.” Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'agenda ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye, era abaali bamuweereza. N'ababuuza nti, “Mumpa magezi ki mmwe okuddamu abantu abaŋŋambye nti, ‘Wewula ku ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ” Awo abavubuka abakula naye, ne bamugamba nti, “Gamba abantu abo abakugambye nti,‘Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe tukikenderezeko,’ nti, ‘Nnasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange. Kale nno oba kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze nnaakyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko, naye nze nnaabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.’ ” Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bakomawo eri Lekobowaamu ku lunaku olwokusatu, nga kabaka bwe yali abalagidde okudda gy'ali ku lunaku olwokusatu. Awo kabaka Lekobowaamu n'abaddamu n'ebboggo, n'aleka amagezi abakadde ge baamuwa, n'agoberera amagezi abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti, “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nnaakyongerangako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko, naye nze nnaabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.” Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu: kubanga ekyo Katonda kye yayagala, alyoke atuukirize ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ng'ayita mu Akiya Omusiiro. Awo Abaisiraeri bonna bwe baalaba nga kabaka tabawuliririza, ne bagamba nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? Era mutabani wa Yese agenda kutuwa ki? Kale mmwe Abaisiraeri, buli muntu addeyo ewaabwe. Mwe ennyumba ya Dawudi mwerabirire.” Awo Abaisiraeri bonna ne baddayo ewaabwe. Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga. Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze eri Abaisiraeri, abaana ba Isiraeri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya eggaali lye, n'addukira e Yerusaalemi. Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero. Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya okuva mu kika kya Yuda n'ekya Benyamini, abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana (180,000), bagende balwanyise Isiraeri, babakomyewo mu bwa kabaka bwe. Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti, “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, kabaka wa Yuda, n'Abaisiraeri bonna ab'omu kika kya Yuda n'ekya Benyamini nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti temulumba baganda bammwe: muddeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi.’ ” Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okulumba Yerobowaamu. Awo Lekobowaamu n'abeera mu Yerusaalemi, n'azimba ebibuga mu Yuda eby'okwerinda mu Yuda: N'azimba Besirekemu, Etamu, Tekowa, Besuzuli, Soko, Adulamu, Gaasi, Malesa, Zifu, Adorayimu, Lakisi, Azeka, Zola, Ayalooni ne Kebbulooni, ebiri mu Yuda ne mu Benyamini, ebibuga ebiriko ebigo. N'anyweza ebigo, n'abiteekamu ababikulira n'emmere ey'okuterekebwa n'amafuta ag'Omuzeyituuni n'envinnyo. N'ateeka mu bibuga ebyo byonna engabo n'amafumu, n'abinywereza ddala. Bwatyo n'afuga Yuda ne Benyamini. Awo Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bava yonna gye baali babeera, ne bajja eri Lekobowaamu. Abaleevi baaleka amalundiro gaabwe ag'okubibuga byabwe, ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba, ne babagaana okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama: Yerobowaamu ne yeetekerawo bakabona ababe ab'ebifo ebigulumivu, n'ab'embuzi ennume nab'ebifaanani by'ennyana bye yakola. Awo abantu bonna ab'omu bika byonna ebya Isiraeri abaalina omutima ogwagala okusinza Mukama Katonda wa Isiraeri ne bagoberera Abaleevi, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, okumala emyaka esatu nga baatambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani. Awo Lekobowaamu n'awasa Makalasi muwala wa Yerimoosi, mutabani wa Dawudi, ne nnyina nga ye Abikayiri muwala wa Eriyaabu, mutabani wa Yese, n'amuzaalira abaana ab'obulenzi: Yewusi, Semaliya ne Zakamu. Oluvannyuma n'awasa Maaka, muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya, Attayi, Ziza ne Seromisi. Lekobowaamu n'ayagala Maaka, muwala wa Abusaalomu, okukira abakyala be abalala bonna n'abazaana be bonna. Bonna awamu yawasa abakazi kkumi na munaana (18), n'abazaana nkaaga (60). N'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu munaana (28) n'ab'obuwala nkaaga (60). Lekobowaamu n'alonda Abiya, mutabani wa Maaka, okukulira baganda be bonna, ng'agenderera okumufuula kabaka. Yakozesa amagezi, n'ateeka batabani be bonna mu bitundu byonna ebya Yuda ne n'ebya Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko ebigo. Y'abawa ebintu bingi nnyo, n'abawasiza abakazi bangi. Awo Lekobowaamu bwe yamala okunywezebwa ku bwakabaka, n'aba n'amaanyi, ye wamu n'Abaisiraeri bonna ne bava ku mateeka ga Mukama. Awo mu mwaka ogw'okutaano ogw'obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w'e Misiri n'alumba Yerusaalemi, kubanga baali bavudde ku Mukama. Yajja n'amagaali lukumi mu bibiri (1,200), n'abasajja abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga (60,000), n'abasserikale abalala bangi nnyo abaava mu Misiri: Mwalimu n'ab'Abalubimu, Abasukkiyimu n'Abaesiyopya. N'awamba ebibuga ebiriko ebigo ebigumu ebya Yuda, n'atuuka e Yerusaalemi. Awo Semaaya nnabbi n'agenda eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olw'okutya Sisaki, n'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbawaayo eri Sisaki.” Awo kabaka n'abakulu ba Isiraeri ne beetoowaza, ne bagamba nti, “ Mukama mutuukirivu.” Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, n'agamba Semaaya nti, “Nga bwe beetoowazizza; sijja kubazikiriza, naye n'abalokola, n'obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki. Naye era baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati w'okumpereza, n'okuwereza bakabaka b'amawanga amalala.” Awo Sisaki, kabaka w'e Misiri, n'alumba Yerusaalemi, n'anyaga eby'obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka, byonna n'abitwalira ddala byonna. N'atwaliramu n'engabo zonna eza zaabu, Sulemaani ze yali akoze. Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu kifo kya ziri, n'azikwasa abakuliranga abakuumi b'emiryango gy'ennyumba ya kabaka. Awo kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abakuuma bajjanga ne bazikwata, n'oluvannyuma ne bazizzayo mu kisenge ky'abakuumi. Awo Lekobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n'akyusa ekiruyi kye n'atamuzikiriza, ne mbeera mu Yuda n'eba nungi. Kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi, n'afuga, yali awezeza emyaka ana mu gumu (41) we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu (17) mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye. Nnyina yali Naama Omwamoni. N'akola ebyali ebibi, kubanga teyamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe. Ebikolwa bya Lekobowaamu, bye yakola okuva lwe yatandika okufuga, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi. Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu olutata. Lekobowaamu naafa, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yerobowaamu owa Isiraeri, Abiya n'atandika okufuga Yuda. N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Mikaaya, muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabaawo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. Abiya n'agenda mu lutalo ng'alina eggye ery'abasajja abazira, emitwalo ana (400,000), ate ye Yerobowaamu najja n'abasajja ab'amaanyi, emitwalo kinaana (800,000) okumulwanyisa. Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'agamba nti, “Gwe Yerobowaamu, nammwe aba Isiraeri mwenna mumpulirize. Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi n'ab'ezzadde lye obwakabaka bwa Isiraeri emirembe gyonna olw'endagaano eterikyuka? Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n'asituka n'ajeemera mukama we. Awo abasajja abataliimu nsa, ne beegatta ku Yerobowaamu ne beewaggula ku Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu, eyali ng'akyali muto nga tannafuna bumanyirivu bwa kubaziyiza. Kaakano mulowooza okulwanyisa obwakabaka bwa Mukama, bwe yawa ab'ezzadde lya Dawudi, kubanga muli kibiina kinene, era era abalina n'ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe. Mwagoba bakabona ba Mukama, ab'olulyo lw'Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'ab'amawanga amalala bwe bakola. Buli ajja ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, muyinza okumufuula kabona w'ebyo ebitali katonda. Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, ba lulyo lw'Alooni era bayambibwako Abaleevi. Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu; ne bateeka n'emigaati egy'okulaga ku mmeeza ennongoofu, ne bakoleeza n'ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu, okwakanga buli kawungeezi. Ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira, naye mmwe mwamuvaako. Laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be balina amakkondeere ge banafuuwa okulangirira olutalo okulwana nammwe. Kale mmwe abaana ba Isiraeri, temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.” Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abamu ku balwanyibe, okuteega eggye lya Yuda nga baliva emabega, ate nga abalala balirumba okuva mu maaso. Awo Yuda bwe yaakebuka, ne balaba nga olutalo lubafulumye mu maaso n'emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakkondeere. Awo abasajja ba Yuda ne baleekaana nnyo: bwe beeyongera okuleekaana ennyo, Katonda n'awangula Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda. Abaana ba Isiraeri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Katonda n'abawaayo mu mukono gwabwe. Abiya n'eggye lye n'ebatta bangi nnyo ku ba Isiraeri, abattibwa bali emitwalo ataano (500,000). Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mulundi ogwo. Abaana ba Yuda basobola okuwangula, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Abiya n'awondera Yerobowaamu, n'amuwambako ebibuga bye: Beseri, Yesana, Efulooni n'ebyalo ebyali bibiriraanye. Yerobowaamu teyaddayo kuba wa maanyi mu mirembe gya Abiya: Mukama n'amulwaza n'afa. Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana (14) n'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu babiri (22) n'ab'obuwala kkumi na mukaaga (16). Ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'empisa ze ne bye yayogera byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Iddo. Abiya naafa n'aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'eba ne mirembe okumala emyaka kkumi (10). Asa n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era ebituufu. N'aggyawo ebyoto ebya bannamawanga n'ebifo ebigulumivu, n'amenya empagi n'atemaatema ne bifaananyi bya Asera. N'alagira Yuda okunoonya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n'okukwata amateeka ge n'ebiragiro bye. Era n'aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda, ebifo ebigulumivu n'ebyoto by'obubaane, obwakabaka ne buba ne mirembe mu biseera bye. N'azimba ebibuga ebiriko ebigo mu Yuda, kubanga ensi yalimu emirembe. Asa teyalina ntalo mu kiseera kye, kubanga Mukama yamuwa emirembe. Asa n'agamba abantu ba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubyetooloozeko ebigo ebigumu n'eminaala n'emiryango egiriko ebisiba. Ensi ekyali yaffe, kubanga tukoze ebyo Mukama Katonda waffe by'ayagala. Tumunoonyezza, naye atuwadde emirembe ku buli ludda.” Awo ne bazimba ne baba bulungi. Asa yalina eggye lya basajja emitwalo asatu (300,000), okuva mu kika kya Yuda, abaakwatanga engabo n'amafumu, n'abasajja emitwalo abiri mu munaana (280,000) okuva mu kika kya Benyamini, abaakwatanga engabo n'obusaale, era nga bonna basajja bazira. Lumu Zeera Omuwesiyopya n'alumba Yuda ng'alina eggye lya basajja akakadde kamu (1,000,000) n'amagaali bisatu (300); n'ajja n'atuuka n'e Malesa. Awo Asa n'avaayo okumwolekera, buli omu n'asimba ennyiriri okulwana mu kiwonvu Zefasa e Malesa. Awo Asa n'akoowoola Mukama Katonda we ng'agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana ggwe mu kuyamba abanafu nga balumbiddwa ab'amaanyi, tuyambe, ayi Mukama Katonda waffe, kubanga tukwesiga ggwe, ne mu linnya lyo mwe tuzze okulwanyisa eggye lino eddene. Ayi Mukama, ggwe Katonda waffe, toganya muntu yenna okukuwangula.” Awo Mukama n'akubira Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka. Asa n'abantu be abaali naye ne babawondera okutuuka e Gerali: Abaesiyopya bangi ne battibwa, eggye lyabwe ne litasobola kuddamu kulwana, kubanga Mukama n'eggye lye baabawangulira ddala. Aba Yuda ne batwala omunyago mungi nnyo. Ne bakuba ebibuga byonna ebyetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya Mukama yabaliko. Ne banyaga ebibuga byonna: kubanga byalimu omunyago mungi. Era ne balumba ensiisira z'abamu ku basumba, ne banyaga ente, endiga n'eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi. Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi: n'agenda okusisinkana Asa n'amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda yonna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; bwe munaamuvangako, naye anaabavangako mmwe. Ebbanga ddene Abaisiraeri lye bamala nga tebalina Katonda ow'amazima, era nga tebalina kabona ayigiriza, era nga talina mateeka: naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba. Ne mu biro ebyo nga tewali muntu yatambulanga mirembe, n'agenda n'adda nga bw'ayagala, kubanga abantu bonna mu bitundu byabwe babanga mu kweraliikirira. Tewaali bumu: amawanga n'amawanga gaalwanagananga, n'ekibuga ekimu nga kirumba kinnaakyo, yabaleetako ennaku n'okweralikirira okwa buli ngeri. Naye mubenga n'amaanyi, so n'emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu gwammwe guliko empeera.” Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yayogera, n'aguma omwoyo, n'aggyawo ebifaananyi byonna ebyasinzibwanga mu nsi yonna eya Yuda n'eya Benyamini, ne mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu. Era n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu luggya lw'ennyumba ya Mukama. Awo Asa n'akuŋŋaanya ab'ekika kya Yuda bonna n'ab'ekya Benyamini, n'abo abaabeeranga mu bo, nga baava mu bitundu: ekya Efulayimu, Manase ne Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye. Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokusatu mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obufuzi bwa Asa. Ku lunaku olwo ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama: ente lusanvu (700) n'endiga kasanvu (7,000), nga baziggya ku munyago. Ne bakola endagaano okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna; era buli muntu atakkirizenga kunoonya Mukama, Katonda wa Isiraeri, attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi. Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery'omwanguka, nga baleekaana, era nga bafuuwa amakkondeere n'eŋŋombe. Abantu bonna ab'omu Yuda ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna. Baanoonya Mukama n'okwagala kwabwe kwonna, ne bamulaba: Mukama n'abawa emirembe enjuyi zonna. Kabaka Asa n'agoba Maaka nnyina ku bwa nnamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole eky'Asera. Asa n'akitematema, n'akimenyamenya, n'akyokera ku kagga Kidulooni. Newakubadde Asa teyasaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu mu Isiraeri, naye omutima ggwe gwatuukirira ennaku ze zonna. N'ateeka mu nnyumba ya Katonda, ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu, kitaawe bye yawonga n'ebyo ye yennyini bye yawonga. Ne watabanga ntalo ndala okutuusa mu mwaka ogw'asatu mu etaano (35) ogw'obufuzi bwa Asa. Awo mu mwaka ogwa asatu mu mukaaga (36) ogw'obufuzi bwa Asa, Baasa, kabaka wa Isiraeri, n'alumba Yuda. N'azimba ekigo ekigumu ku Laama okuziyiza omuntu yenna okuva mu Yuda, wadde okugendayo, okusobola okutuuka eri Asa kabaka wa Yuda. Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu muggwanika ly'omu nnyumba ya Mukama, ne mu lubiri lwe, n'abiweereza Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, n'obubaka buno nti, “Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng'eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweereza ffeeza ne zaabu, omenyewo endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.” Benikadadi n'akkiriziganya ne kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri: ne bawamba Iyoni, Ddaani, Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'amawanika ebya Nafutaali. Baasa bwe yawulira ebiguddewo, n'alekerawo okuzimba Laama, n'ayimiriza okukomya omulimu. Awo kabaka Asa n'atwala abasajja ba Yuda, ne baggyawo amayinja n'emiti, Baasa bye yali azimbisa, n'abikozesa okuzimba Geba ne Mizupa. Mu kiseera ekyo, Kanani nnabbi, n'agenda eri Asa kabaka wa Yuda, n'amugamba nti, “Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli, n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya Isiraeri kye livudde likusumattuka. Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi n'abeebagala embalaasi bangi? Naye kubanga weesiga Mukama, yabakuwa n'obawangula. Kubanga amaaso ga Mukama galaba okubuna ensi yonna, okweraga nga bw'ali ow'amaanyi okukuuma abo abamwesigira ddala. Kino ky'okoze kya busiru, olw'ekyo, okuva leero ojja kubanga n'entalo.” Awo Asa n'asunguwalira nnyo nnabbi, kyeyava amukwata n'amuteeka mu kkomera. Mu biseera ebyo, Asa n'ayisa bubi nnyo abantu abamu. Ebikolwa bya Asa okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri. Mu mwaka ogw'asatu mu mwenda ogw'obufuzi bwe, Asa n'alwala ebigere, n'aba bubi nnyo. Naye newakubadde yalumizibwa nnyo, teyasaba Mukama kumuwonya, wabula yakozesa basawo. Awo mu mwaka ogw'ana mu gumu (41), Asa naafa. Ne bamuziika mu ntaana gye yali yeesimira mu lwazi, mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyaliko eby'akaloosa eby'enjawulo n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa. Ne bakuma ekyoto kinene okumukungubagira. Yekosafaati n'asikira Asa kitaawe, n'afuuka kabaka, era ne yeenyweza okulwana ne Isiraeri. N'ateeka amaggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe bya Yuda, n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda, ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yawamba. Mukama n'abeera wamu ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu mpisa ennungi eza kitaawe ezasooka, n'atagenda eri Babaali; naye n'agendanga eri Katonda wa kitaawe, n'atambulira mu mateeka ge, n'atakola ng'ebikolwa bya Isiraeri bwe byali. Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo. Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama: n'aggyawo ebifo ebigulumivu nebifaananyi bya Asera mu Yuda. Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'atuma abakungu be; Benikayiri, Obadiya, Zekkaliya, Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda. Awamu nabo n'atuma n'Abaleevi: Semaaya, Nesaniya, Zebadiya, Asakeri, Semiramoosi, Yekonasaani, Adoniya, Tobbiya ne Tobadoniya. Awamu n'Abaleevi abo n'atuma ne bakabona Erisaama ne Yekolaamu. Ne bayigiriza mu Yuda nga bakozesa ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu. Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, ne batalwanyisa Yekosafaati. Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ng'omusolo. Abawalabu ne bamuleetera embuzi kasanvu mu lusanvu (7,700), n'endiga ennume kasanvu mu lusanvu (7,700). Yekosafaati ne yeeyongera okuba n'amaanyi, n'azimba mu Yuda ebigo n'ebibuga eby'amawanika. Yalina ebintu bingi mu bibuga bya Yuda. Yalina abasserikale abasajja ab'amaanyi era abazira mu Yerusaalemi. Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali: okuva mu kika kya Yuda, Aduna ye yali akulira abaduumizi ab'ebinja eby'olukumi, abasajja ab'amaanyi emitwalo asatu (300,000). N'eyamuddirira yali Yekokanani omuduumizi w'abasirikale emitwalo abiri mu munaana (280,000). Ow'okusatu yali Amasiya, mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe okuweereza Mukama, yali aduumira abasserikale, abasajja ab'amaanyi era abazira, emitwalo abiri (200,000). Okuva mu kika kya Benyamini; Eriyada omusajja ow'amaanyi era yali aduumira abasserikale emitwalo abiri (200,000), abalina obusaale n'engabo. Eyali amuddirira yali Yekozabadi, nga aduumira abasserikale, abeeteeseteese okulwana, emitwalo kumi na munaana (180,000). Abo be baaweerezanga kabaka, nga tobaliddeeko abo be yateeka mu bibuga ebyaliko ebigo ebigumu okubuna Yuda yonna. Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga w'akitiibwa kingi nnyo nnyini, n'ateekateeka mutabani we awase muwala wa Akabu. Bwe waayitawo emyaka, n'agenda e Samaliya okulaba ku Akabu. Akabu n'amuteekerateekera ekijjulo eky'amaanyi, n'amuttira endiga n'ente nnyingi nnyo, ye n'abantu be yagenda nabo, era n'amusendasenda balumbe Lamosugireyaadi. Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi? ” Yekosafaati n'addamu nti, “Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo. Tujja ku kwegatako mu lutalo.” Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.” Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi, abasajja bina (400), n'ababuuza nti, “Tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? ” Ne baddamu nti, “Genda okirumbe. Katonda ajja kukikuwa okiwangule.” Naye Yekosafaati n'abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama mulala, tumwebuuzeeko?” Kabaka wa Isiraeri n'addamu Yekosafaati nti, “Waliwo omusajja omulala omu ayinza okutubuuliza Mukama: oyo ye Mikaaya, mutabani wa Imula, naye n'amukyawa; kubanga tandagulangako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n'agamba nti, “Kabaka, toyogera bw'otyo.” Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omukungu we, n'amugamba nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula, mubwangu.” Kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka, ne batuula buli muntu ku ntebe ye, mu gguliro, ku mulyango gwa wankaaki ogwa Samaliya. Bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe. Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana eyali yeeweesereza amayembe ag'ekyuma. n'agamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama, nti Olitomera Abasuuli na gano, okutuusa lwe balimalibwawo.” Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga bagamba nti, “Genda olumbe Yambuka Lamosugireyaadi okiwangule, kubanga Mukama ajja kukuwa obuwanguzi.” Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti, “Laba, ebigambo bya bannabbi abalala bonna bye babulidde kabaka ebirungi, nkwegayiridde, ekigambo kyo kibe ng'ebigambo byabwe, oyogere ebirungi.” Naye Mikaaya n'addamu nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaŋŋamba, ekyo kye nnaayogera.” Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n'amubuuza nti, “Mikaaya, tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” Mikaaya n'addamu nti, “Mugende mukirumbe, mujja kuwangula, Mukama ajja kubawa obuwanguzi.” Awo kabaka n'amugamba nti, “Naakulayiza emirundi emeka obutanimba, wabula okumbuulira amazima mu linnya lya Mukama?” Awo Mikaaya n'addamu nti, “Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'agamba nti, ‘ Abo tebalina mukama waabwe: buli muntu addeyo mu nnyumba ye mirembe.’ ” Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti taalagule birungi ku nze wabula ebibi?” Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti, “Kale muwulire ekigambo kya Mukama, ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye, n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono. Mukama n'abuuza nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri alumbe Lamosugireyaadi attibwe?’ Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri. Awo ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama, ne gugamba nti, ‘Nze naamusendasenda.’ Mukama n'agubuuza nti, ‘Otya?’ Ne guddamu nti, ‘Nja kugenda mbeera omwoyo ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna.’ Mukama n'agamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.’ Kale nno, laba, Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano, era ggwe akwogeddeko bubi bwereere.” Awo Zeddekiya, mutabani wa Kenaana, n'asembera n'amukuba Mikaaya ku tama, n'amugamba nti, “Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe?” Mikaaya n'amuddamu nti, “Ddala, ekyo olikiraba ku lunaku lw'oliyingira okwekweka mu kisenge eky'omunda.” Awo kabaka wa Isiraeri n'alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mu muzzeeyo ewa Amoni omukulu w'ekibuga ne wa Yowaasi mutabani wa kabaka. Mubagambe nti, ‘kabaka alagidde nti, Olusajja luno muluteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n'amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ” Awo Mikaaya n'agamba nti, “Bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti, “Muwulire, mmwe abantu mwenna, kye njogedde.” Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne balumba Lamosugireyaadi. Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nnefudde, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge nti, “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.” Awo olwatuuka abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne bagamba nti, “Oyo ye kabaka wa Isiraeri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n'alaajana nnyo, Mukama n'amuyamba, Katonda n'abamuggyako. Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, kale ne balekerawo okumuwondera. Naye omusajja omu n'amala ganaanuula omutego ggwe, n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti, “Kyusa eggaali, onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa nnyo.” Awo olutalo ne lunyinyittira nnyo ku lunaku olwo, kabaka wa Isiraeri ne yeewaliriza okusigala mu ggaali lye ng'atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng'egwa n'afa. Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n'akomawo mu nnyumba ye mirembe e Yerusaalemi. Awo nnabbi Yeeku, mutabani wa kanani, n'afuluma okusisinkana kabaka Yekosafaati, n'amugamba nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n'okolagana n'abo abakyawa Mukama? Olw'ekikolwa ekyo Katonda akusunguwalidde. Naye mu ggwe mukyalimu ebirungi: kubanga waggyawo ebifaananyi bya Asera mu nsi yo, n'omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.” Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi. N'addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi y'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. N'assaawo abalamuzi mu buli kibuga kya Yuda ekiriko ekigo ekigumu, n'agamba abalamuzi nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bwa bantu wabula ku bwa Mukama, abeera awamu nammwe nga musala emisango. Kale nno mutye Mukama, musseeko omwoyo ku bye mukola, kubanga Katonda waffe tagumikiriza kikyamya nsonga, newaankubadde okusaliriza, wadde okulya enguzi.” Mu Yerusaalemi Yekosafaati y'eteekamu Abaleevi ne bakabona n'abamu bakulu b'ennyumba mu Isiraeri, okulamulanga ku bwa Mukama. Babeeranga mu Yerusaalemi. Awo n'abakuutira ng'agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama n'obwesigwa era n'omutima gumu. Baganda bammwe abali mu bibuga byabwe, bwe banaaleetanga gye muli emisango oba gy'abutemu oba gy'akumenya mateeka oba biragiro oba kusobya ebibalagirwa, mubalabulenga, baleme okunyiiza Mukama, sikulwa nga abasunguwalira mmwe ne baganda bammwe abo. Mukolenga bwe mutyo, muleme kubaako musango.” Era, Amaliya kabona omukulu yanavunaanyizibwanga ku nsonga zonna eza Mukama, Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu mu kika kya Yuda yanavunaanyizibwanga ensonga zonna eza kabaka, n'Abaleevi banaaweerezanga nammwe. Mukole n'obuvumu era Mukama abeere n'abo abakola ebituufu. Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n'Abamoni nga bali wamu n'abamu ku Bamewuni, ne balumba Yekosafaati okulwana naye. Abasajja abamu ne bagenda ne bagamba Yekosafaati nti, “ Eggye ddene eriva emitala w'ennyanja e Busuuli likulumbye, era lituuse e Kazazomutamali, ye Enedi.” Yekosafaati n'atya, n'amalira okwebuuza ku Mukama, n'alangirira okusiiba mu Yuda yonna. Yuda yenna ne bakungaana okusaba Mukama abayambe. baaviira ddala mu bibuga byonna ebya Yuda okwegayirira Mukama. Awo Yekosafaati n'ayimirira mu maaso g'ekkungaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya, n'agamba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow'omu ggulu? Si ggwe afuga obwakabaka bwonna mu nsi? Olina obuyinza n'amaanyi, tewali ayinza okukuziyiza. Ayi Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna? Ne babeera omwo, era bakuzimbidde Yeekaalu okukusinzizangamu, nga bagamba nti, ‘Obubi bwe bunaatutuukangako, n'olutalo oba musango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola.’ Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okulumba bwe bali baava mu nsi y'e Misiri, naye ne baabeebalama ne batabazikiriza. Laba, kye batusasula, kwe kujja okutugoba mu nsi gye watuwa okuba obutaka bwaffe. Ayi Katonda waffe, obaziyize, kubanga ffe tetulina maanyi n'akatono okulwanyisa eggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kye tunaakola, wabula tutunuulidde ggwe.” Abasajja bonna aba Yuda, wamu n'abakazi, n'abaana baabwe, omuli n'abawere, ne bayimirira mu maaso ga Mukama. Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya, muzzukulu wa Yeyeeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow'ekika ky'Asafu eyali wakati mu kibiina. N'ayogera nti, “Muwulire, mmwe aba Yuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abagamba Mukama nti, ‘Temutya mmwe so temukeŋŋentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda.’ ” “Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, nammwe munabasanga ekiwonvu we kikoma era eddungu ly'e Yerweri we litandikira. Tekijja kubeetaagisa kulwana lutalo luno: muyimirire buyimirizi mu bifo byammwe, mulyoke mulabe obuwanguzi Mukama bw'anaabawa mmwe, Yuda ne Yerusaalemi. Temutya era temuterebuka. Enkya mu balumbe, kubanga Mukama ali nammwe.” Awo Yekosafaati n'avuunama ddala ku ttaka, ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, ne bamusinza. Abaleevi ab'omu lulyo lwa Kokasi n'ab'omu lulyo lwa Kola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri n'eddoboozi ery'omwanguka. Enkeera mu makya ne basituka ne bagenda mu ddungu ery'e Tekowa. Awo bwe baali nga batandika okutambula, Yekosafaati n'ayimirira n'abagamba nti, “Mumpulire, mmwe aba Yuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi; mukkirize Mukama Katonda wammwe, bwe mutyo bwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, bwe mutyo bwe munaalaba omukisa.” Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obukulu bwe, nga bambadde ebyambalo ebitukuvu. Bakulemberemu eggye nga bayimba nti, “Mwebaze Mukama; kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo bwe baatandika okuyimba n'okutendereza, Mukama n'ataayiza abasajja ba Amoni n'aba Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bagugumulwa. Abasajja ba Amoni n'aba Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, ne babazikiririza ddala. Bwe baamala okubasaanyawo ate ne bakyukiragana ne batingana. Awo abasajja ba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw'omu ddungu, ne batunuulira eggye lya balabe, ne balaba nga bonna mirambo egigaŋŋalamye, nga tewali awonyeewo. Awo Yekosafaati n'abantu be bwe bajja okubaggyako omunyago, ne basanga wo ebintu bingi n'engoye nnyingi, n'eby'obugagga bingi, ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga babisomba. Awo ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka, ne batendereza Mukama: ekiwonvu ekyo kye kyava kituumibwa erinnya Beraka, ne leero. Awo Yekosafaati n'akulemberamu aba Yuda n'abe Yerusaalemi, ne baddayo okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama yali awangudde abalabe baabwe. Bwe batuuka e Yerusaalemi, ne bagenda mu nnyumba ya Mukama nga balina entongooli n'ennanga n'amakondeere. Entiisa ya Katonda n'ejja ku bwakabaka bwonna obw'ensi bwe baawulira nga Mukama yalwana n'abalabe ba Isiraeri. Awo obwakabaka bwa Yekosafaati ne butereera: kubanga Katonda we yamuwa emirembe ku enjuyi zonna. Yekosafaati yafuuka kabaka wa Yuda nga wa myaka asatu mu etaano (35), n'afugira emyaka abiri mu etaano (25) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siruki. N'atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi. Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo, era n'abantu baali tebewereddeyo ddala mu mitima gyabwe okusinzanga Katonda wa bajjajjaabwe. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya Yeeku, mutabani wa Kanani, n'ebiyingizibwa ne mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri. Oluvannyuma Yekosafaati yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri eyakola ebibi ebingi. Yeegatta naye okukola ebyombo eby'okugenda e Talusiisi, ne babikolera e Ezyonigeba. Awo Eryeza, mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa, n'alabula Yekosafaati ng'agamba nti, “Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama ajja kuzikiriza by'okoze.” Ebyombo ne bimenyekera mu nnyanja ne bitayinza kugenda e Talusiisi. Awo Yekosafaati naafa, n'aziikibwa awali bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi. Yekolaamu, mutabani we n'amusikira okuba kabaka. Yekolaamu yalina baganda be: Azaliya, Yekyeri, Zekkaliya, Azaliya, Mikayiri ne Sefatiya, abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri. Kitaabwe n'abawa ebintu bingi: ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala eby'omuwendo omungi, wamu n'ebibuga ebiriko ebigo ebigumu mu Yuda, naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye. Awo Yekolaamu bwe yamala okutuuzibwa ku ntebe ey'Obwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza, n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala, n'abamu ab'oku bakungu ba Isiraeri. Yekolaamu yafuuka kabaka nga wa myaka asatu mu ebiri (32), n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, nga ab'ennyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yawasa muwala wa Akabu, n'akola ebibi n'anyiiza Mukama. Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yakola ne Dawudi, era nga yamusuubiza nti ab'omu zzadde lye banaafuganga emirembe gyonna. Ku mirembe gya Yekolaamu, Edomu n'ajeema naava mu bufuzi bwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka. Awo Yekolaamu n'abaduumizi be ne basala ensalo, ne bagenda n'amagaali ge gonna okulumba Edomu. Abaedomu ne bamuzingiza, naye ekiro ne basobola okuwaguza ne bagenda. Bwe batyo Abaedomu ne bajeemera Yuda ne leero. Era mu biseera ebyo, Libuna n'ajeemera Yekolaamu, kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe. Era n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'aleetera abantu b'omu Yerusaalemi, n'emu Yuda okusobya Mukama. Awo Yekolaamu n'afuna ebbaluwa eyava ewa Eriya nnabbi, ng'egamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera, Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo, nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo, ne mu ga Asa jjajjaawo, bassekabaka ba Yuda, naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oleteera abantu b'omu Yuda n'emu Yerusaalemi, okuva ku Mukama ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola, okwo n'ossaako okutta baganda bo, ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi: kale nno, Mukama ajja kulwaza abantu bo, abaana bo ne bakazi bo kawumpuli mungi, azikirize n'ebintu byo byonna. Naawe wennyini olirwala endwadde enzibu, erikuluma buli lunaku. Ebyenda byo birirwala, okutuusa lwe bikuvaamu, endwadde erikulumira ddala.” Awo Mukama n'ateeka mu Bafirisuuti n'Abawalabu abaali baliraanye Abaesiyopya, omwoyo ogw'okulwanyisa Yekolaamu, ne balumba Yuda, ne bakiwangula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya kabaka. Ne banyaga batabani be, ne bakazi be bonna okuggyako Yekoyakaazi, mutabani we asingayo obuto. Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna, Mukama n'alwaza Yekolaamu endwadde y'ebyenda. Awo olwatuuka, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bimuvaamu, olw'endwadde ye, n'afiira mu bulumi bungi nnyo. Abantu be ne batamukumira kyoto kumukungubagira nga bwe kyakolebwanga ku bajjajjaabe. Yali wa myaka asatu mu ebiri (32) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. Bwe yafa tewali yamusaalirwa, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka. Awo abantu ab'omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu asingayo obuto, kabaka, kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n'atandika okufuga Yuda. Akaziya yali wa myaka ana mu ebiri (42) we yatandikira okufuga, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Asaliya, muwala wa Omuli. Era ne Akaziya n'atambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu: kubanga nnyina ye yamupikirizanga okukola obubi. N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuwanga amagezi ag'okumuzikiriza, kitaawe ng'amaze okufa. Era yagobereranga amagezi ge bamuwanga, n'agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, okulwanyisa Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu. Awo Yolaamu n'akomawo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye baamufumitira e Laama, bwe yali ng'alwana ne Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu, kabaka wa Yuda n'agenda okulaba Yekolaamu mutabani wa Akabu, e Yezuleeri obulwadde. Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okuzikirira kwa Akaziya kulimutuukako ng'akyalidde Yolaamu: kubanga bwe yatuukayo ate n'agenda ne Yekolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu. Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'atuukiriza ekibonerezo Katonda kye yasalira ab'ennyumba ya Akabu, n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya abaali bawerekedde Akaziya, n'abatta. N'alagira banoonye Akaziya, ne bamukwatira gye yali yeekwese mu Samaliya, ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta, ne bamuziika, kubanga baagamba nti, “Ye muzzukulu wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna.” Ennyumba ya Akaziya n'etesigalamu muntu wa maanyi okufuuka kabaka. Awo Asaliya, nnyina Akaziya, bwe yalaba nga mutabani omwana we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza ennyumba yonna ey'obwakabaka bwa Yuda. Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka, yali afumbiddwa Yekoyaada, kabona, n'atwala Yowaasi mu bubba, n'amuggya mu baana ba kabaka abali bagenda okuttibwa, n'amukweka n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu. Bwatyo n'amuwonya okuttibwa Asaliya. Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama okumala emyaka mukaaga, nga Asaliya y'afuga ensi. Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada naakozesa obuyinza bwe, n'akola endagaano n'abaduumizi ab'ebibinja by'ekikumi; Azaliya mutabani wa Yerokamu, Isimaeri mutabani wa Yekokanani, Azaliya mutabani wa Obedi, Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli. Awo ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi okuva mu bibuga byonna ebya Yuda, n'abakulu be bika bya Isiraeri, ne bajja nabo e Yerusaalemi. Ekibiina kyonna ne balagaana endagaano ne kabaka mu nnyumba ya Katonda. Awo Yekoyaada n'abagamba nti, “mutabani wa kabaka, yaba afuuka kabaka, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi. Kino kye munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n'Abaleevi, abanaabeeranga ku luwalo ku Ssabbiiti, munaakumanga emiryango gya Yeekaalu. Ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga ennyumba ya kabaka, n'ekimu eky'okusatu ekirala munaakuumanga omulyango ogw'omusingi. Abantu bonna banaabeeranga mu luggya lwa Yeekaalu. Tewaabenga muntu yenna ayingira mu nnyumba ya Mukama, okuggyako bakabona n'Abaleevi abanaabeeranga ku luwalo, abo banaayingiranga, kubanga batukuvu: naye abantu abalala bonna bakwate ekiragiro kya Mukama, basigale ebweru. Era Abaleevi banaayimiriranga nga beebunguludde kabaka, buli muntu ng'akutte eby'okulwanyisa bye, na buli anaayingiranga mu Yeekaalu wa kuttibwanga. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy'anaagendanga.” Awo Abaleevi na bantu ba Yuda bonna, ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yabalagira. Buli muduumizi n'atwala basajja be abaali bayingira okukola, wamu n'abo abaali bannyuka ku Ssabbiiti, kubanga Yekoyaada kabona teyasiibula baali bamaze oluwalo lwabwe ku Ssabbiiti. Awo Yekoyaada kabona n'awa abaduumizi ab'ekikumi, amafumu, engabo ennene n'entono, ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Katonda. Era n'ateeketeeka abantu bonna okukuuma kabaka, buli muntu ng'akutte eky'okulwanyisa kye, nga beetoolodde kabaka, ekyoto, ne Yeekaalu, okuva ku bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono, obwa Yeekaalu. Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikira engule ey'obwakabaka ku mutwe, n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu amateeka agafuga obwakabaka. Bwatyo n'afuulibwa kabaka, Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta, ne bagamba nti, “ Kabaka abe mulamu.” Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga badduka era nga batendereza kabaka, n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama: Bwe yatuuka bw'ati nnalaba kabaka ng'ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n'abakungu n'abafuuwa amakkondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n'abantu bonna ab'ensi nga basanyuka nga bafuuwa amakkondeere, n'abayimbi nabo nga bakuba ebivuga byabwe, nga bakulembera ennyimba okutendereza. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'agamba nti, “Bujeemu, bujeemu.” Awo Yekoyaada kabona n'ayita abaduumizi b'ebibinja by'ekikumi, n'abagamba nti, “Temumuttira mu nnyumba ya Mukama, mumufulumye nga mumuyisa wakati mu nnyiriri. Buli anaamugoberera okumutaasa mu mutte.” Ne bamukwata, ne bamutwala mu lubiri, ne bamuttira eyo, ku Mulyango gw'Embalasi. Awo Yekoyaada n'akola endagaano nga yeegasse wamu n'abantu bonna ne kabaka, nti banabeerenga abantu ba Mukama. Awo abantu bonna ne bagenda awali essabo lya Baali, ne balimenyerawo ddala, ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyaamenya, era ne battira Matani, kabona wa Baali, mu maaso g'ebyoto. Awo Yekoyaada omulimu gw'okulabiriranga Yeekaalu ya Mukama, n'agukwasa bakabona n'Abaleevi, Dawudi be yateekawo mu nnyumba ya Mukama okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bakola basanyuka era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira. Yekoyaada era n'ateekawo abaggazi ku miryango gy'ennyumba ya Mukama, walemenga kuyingiramu omuntu atali mulongoofu. Awo n'ayita abaduumizi be bibinja by'ekikumi, n'abakungu, n'abakulembeze b'abantu, n'abantu bonna ab'omu nsi, ne baggya kabaka mu nnyumba ya Mukama, ne bamutwala mu nnyumba ya kabaka, nga bamuyisa mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu, ne bamutuuza ku ntebe y'obwakabaka. Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera, nga Asaliya amaze okuttibwa ne n'ekitala. Yowaasi yali wa myaka musanvu we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka ana (40) mu Yerusaalemi. Nnyina Zebbiya ow'e Beeruseba. Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona. Yekoyaada n'amuwasiza abakazi babiri, ne bamuzaalira abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Bwe waayitawo ebbanga, Yowaasi n'asalawo okuddaabiriza ennyumba ya Mukama. N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ku ba Isiraeri bonna, buli mwaka, effeeza ey'okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne balwawo okukikola. Awo kabaka n'ayita Yekoyaada kabona omukulu waabwe, n'amubuuza nti, “Lwaki tewasalira Abaleevi okuleetanga omusolo okuva mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Musa omuddu wa Mukama gwe yalagira ekibiina kya Isiraeri okuwanga, olw'okulabiriranga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama?” Kubanga batabani ba Asaliya, omukazi oyo omubi, baali bamenye ennyumba ya Katonda; era n'ebintu byonna ebyawongebwa eby'omu nnyumba ya Mukama ne babiwa Babaali. Awo kabaka n'alagira Abaleevi ne bakola essanduuko, ne bagiteeka ebweru awali oluggi olw'ennyumba ya Mukama. Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, abantu okuleeta eri Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira aba Isiraeri nga bali mu ddungu. Awo abakungu bonna n'abantu bonna ne basanyuka, ne baleetanga omusolo, ne baguteekanga mu ssanduuko okutuusa lwe baamala. Awo olwatuuka Abaleevi buli lwebaleetanga essanduuko ewa kabaka okukebera ekirimu, ne basanga ng'erimu effeeza nnyingi, awo omuwandiisi wa kabaka n'omuweereza wa kabona omukulu bajjanga ne baziggyamu, bwe bamalanga nga bagizzayo mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, ne bakungaanya effeeza nnyingi nnnyo. Awo kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gw'okuddaabirizanga ennyumba ya Mukama, bo be balagaananga n'abaasi ba amayinja, n'ababazzi n'abaweesi b'ebyuma n'ab'ebikomo, okuddaabiriza ennyumba. Abakozi abo ne bakola omulimu n'amaanyi, ne baddaabiriza ennyumba ya Katonda nga bwe kyagwanira, ne baginyweza. Awo bwe baamaliririza omulimu effeeza eyasigalawo ne bagireetera kabaka ne Yekoyaada. Ate bo ne bazigulamu ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama: ebijiiko n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza, Ne bawangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama buli lunaku ennaku zonna eza Yekoyaada. Awo Yekoyaada n'akaddiwa, naafa ng'awangadde emyaka kikumi mu asatu (130). Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi mu kifo we baziika ba bakabaka, kubanga yali akoze ebirungi mu Isiraeri, eri Katonda n'ennyumba ye. Awo oluvannyuma Yekoyaada ng'afudde, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'abawuliriza. Ne balekayo okusinzizanga mu ennyumba ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne basinzanga Asera, n'ebifaananyi. Olwo kusobya kwabwe okwo Katonda n'asunguwalira abantu ba Yuda na b'omu Yerusaalemi. Mukama n'abaweerezanga bannabbi okubakomyawo gy'ali, ne babalabulanga, naye bo nga tebasaayo mwoyo, ne ba tawulira. Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada kabona, n'ayimirira abantu we bayinza okumulabira n'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Katonda nti, lwaki mumenya ebiragiro bya Mukama, n'emwereetera emitawaana? Temuyinza kulaba mukisa. kubanga mwaleka Mukama, naye kyavudde abaleka mmwe.” Naye ne bamwekobaanira, era ku kiragiro kya kabaka ne bamukubira amayinja mu luggya lw'ennyumba ya Mukama. Bw'atyo kabaka Yowaasi n'atajjukira kisa ekyamukolerwa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya, naye n'atta mutabani we. Awo Zekkaliya bwe yali ali kumpi okufa n'agamba nti, “Mukama akitunuulire, akubonereze.” Awo ku nkomerero y'omwaka, eggye ery'Abasuuli ne lirumba Yowaasi, okumutabaala: ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne batta abakungu bonna ab'abantu okubamalirawo ddala. Ebintu byonna bye banyaga ne babiweereza ewa kabaka w'e Ddamasiko. Eggye ery'Abasuuli lyali ttono Mukama n'abawa okuwangula eggye eddene erya Yuda kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Bw'atyo Yowaasi bwe yabonerezebwa. Awo Abasuuli bwe baavaayo, baleka Yowaasi alumizibwa nnyo olw'ebiwundu bye yafuna, abaddu be ne bamwekobaanira olw'omusaayi gwa batabani ba Yekoyaada kabona, ne bamuttira mu kitanda kye. Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye ne batamuziika mu masiro ga bassekabaka. Era bano be baakola olukwe okumutta: Zabadi, mutabani wa Simeyaasi, omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi, mutabani wa Simulisi, omukazi Omumowaabu. Ebyafaayo ebikwata ku batabani ba Yowaasi, ne bizibu bannabbi bye balanga ku ye, n'eby'okuddabiriza ennyumba ya Katonda, byonna byawandiikibwa mu binnyonnyola Ekitabo kya Bassekabaka. Amaziya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye. Amaziya yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Yekoyadaani ow'e Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, naye si na mutima ogutuukiride. Awo olw'amala okwenyweza ku bwakabaka, n'atta abaddu be abatta kabaka kitaawe. Naye n'atatta baana baabwe, wabula n'akola nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ag'omu kitabo kya Musa, Mukama bwe yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw'ekibi ky'abaana baabwe, so n'abaana tebattibwenga olw'ekibi kya bazadde baabwe. Naye buli muntu anattibwanga olw'ekibi kye ye” Amaziya n'akuŋŋaanya abasajja ab'omu kika kya Yuda, n'ab'omu kika kya Benyamini, n'abateeka mu bibinja ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, nga bakulemberwa abaduumizi ab'enkumi n'ab'ebikumi. N'abala abo bonna abali bawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, ne baba basajja emitwalo asatu (300,000), abalondemu abayinza okugenda mu lutalo, abamanyirivu mu kulwanyisa amaffumu n'engabo. Ate era n'apangisa abasajja abalala ab'amaanyi abazira emitwalo kkumi (100,000) ng'abaggya mu Isiraeri, ku muwendo gwa talanta kikumi (100) eza ffeeza Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gyali n'amugamba nti, “Ayi kabaka teweekolera n'ogenda n'eggye lya Isiraeri, kubanga Mukama tali wamu ne Isiraeri, tali wamu n'abantu bonna ab'Efulayimu. Naye bw'onooyagala okugenda, ng'olowooza nti olwo lw'onobeera n'amaanyi mu lutalo, Katonda ajja kukumegga mu maaso g'abalabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba n'okulekerera.” Awo Amaziya n'abuuza omusajja wa Katonda nti, “ Naye tunaakola tutya talanta ekikumi (100) ze mmaze okusasula eggye lya Isiraeri?” Omusajja wa Katonda n'addamu nti, “Mukama ayinza okukuwa ekisinga ennyo ku ekyo.” Awo Amaziya n'alagira eggye eryali lizze gy'ali okuva mu Efulayimu, okuddayo ewaabwe. Nebasunguwalira nnyo aba Yuda, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi. Awo Amaziya n'aguma omwoyo n'alumba n'abantu be, n'agenda mu kiwonvu eky'omunnyo, n'atta ku basserikale b'e Seyiri omutwalo gumu (10,000). Eggye lya Yuda ne bawamba n'abasajja abalala omutwalo gumu (10,000), ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku eyo ku lwazi, bonna ne bamenyekemenyeka. Naye abasajja ab'omu ggye, Amaziya n'abagaana okugenda naye mu lutalo, ne balumba ebibuga bya Yuda, okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne battamu enkumi ssatu (3,000), ne batwala omunyago mungi. Awo olwatuuka Amaziya bwe yakomawo ng'amaze okutta Abaedomu, n'aleeta bakatonda b'abantu ab'e Seyiri, n'abassaawo okuba bakatonda be, n'abavuunamira, era n'abootereza obubaane. Mukama kyeyava asunguwalira Amaziya, n'amutumira nnabbi eya mubuuza nti, “ Lwaki osinza bakatonda b'abantu, abataawonya bantu baabwe bo mu mukono gwo?” Kyokka bwe yali ng'akyayogera, kabaka n'amubuuza nti, “ Twali tukulonze okuwanga kabaka amagezi? Oba tonoonya kuttibwa, sirika.” Nnabbi n'asirika, naye ng'amaze okumugamba nti, “ Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga okoze ekyo, ate n'otowuliriza magezi ge nkuwadde.” Awo Amaziya, kabaka wa Yuda, bwe yamala okwebuuza ku bawi b'amagezi be, n'atumira Yowaasi, mutabani wa Yekoyakaazi, era muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isiraeri, ng'agamba nti, “ Jjangu tulabagane maaso n'amaaso.” Naye Yowaasi, kabaka wa Isiraeri, n'addamu Amaziya, kabaka wa Yuda, bw'ati nti, “Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwalawo eri mutabani wange, amufumbirwe.’ Naye ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni bwe yali eyitawo n'erinnyirira omwennyango. Wewaana nti owangudde Edomu, n'omutima gwo gujjudde okwegulumiza, n'okwenyumiriza. Kale beera ewuwo. Lwaki wereteera emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Yuda yonna?” Naye Amaziya n'agaana okuwuliriza, kubanga kyava eri Katonda abaweeyo bawangulwe abalabe baabwe, kubanga baasinza bakatonda ba Edomu. Awo Yowaasi, kabaka wa Isiraeri, n'alumba, ye ne Amaziya, kabaka wa Yuda, ne basisinkana maaso n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda. Yuda n'awangulwa Isiraeri, buli muntu n'adduka n'addayo ewuwe. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awamba Amaziya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi, e Besusemesi, n'amuleeta e Yerusaalemi, n'amenyaamenya ekitundu kya bbugwe wa Yerusaalemi, okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono bina (400). N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n'ebintu byonna bye yasanga mu nnyumba ya Katonda nga bikuumibwa Obededomu, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abasibe, n'addayo e Samaliya. Awo Amaziya, mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Yuda, n'awangaala emyaka kkumi n'etaano (15) nga Yowaasi, mutabani wa Yekoyakaazi, kabaka wa Isiraeri, ng'amaze okufa. Ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri. Amaziya okuviira ddala lwe yakyuka n'ava ku Mukama, ne bakola olukwe mu Yerusaalemi okumutta, naye n'addukira e Lakisi. Naye ne bamusindikira abasajja abamuwondera okutuuka e Lakisi, ne bamuttirayo. Omulambo gwe ne baguleetera ku mbalaasi, ne bamuziika mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda. Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga (16) ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya. Uzziya n'addaabiriza Erosi, n'akiddiza Yuda, nga Amaziya kabaka amaze okufa. Uzziya yali wa myaka kkumi na mukaaga (16) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka ataano mu ebiri (52) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi. N'akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bye yakola. Ne yeewaayo okunoonya Katonda, mu nnaku za Zekkaliya eyamuyigiriza okusaamu Katonda ekitiibwa. Era ebbanga lyonna lye yamala ng'anoonya Mukama, Katonda n'amuwa omukisa. Awo n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe w'ekibuga Gaasi, n'owa Yabune n'owa Asudodi. N'azimba ebibuga mu kitundu ky'e Asudodi ne mu nsi y'Abafirisuuti. Katonda n'amuyamba okuwangula Abafirisuuti n'Abawalabu abaabeeranga e Gulubaali n'Abamewunimu. Abamoni ne bawanga Uzziya omusolo, erinnya lye ne lyatiikirira n'okutuusa ku nsalo ne Misiri, kubanga yali wa amaanyi mangi nnyo nnyini. Era Uzziya n'azimba eminaala mu Yerusaalemi ku mulyango ogw'omu Nsonda ne ku mulyango ogw'omu Kiwonvu, ne ku bbugwe w'awetera, n'abinyweza. N'azimba eminaala emirala mu ddungu n'asima ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi mu biwonvu ne mu lusenyi. Era yalina abalimi n'abasalira emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu, kubanga yayagala nnyo okulima. Era Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abeetegese okulwana, nga bali mu bibinja, ababalibwa ne bawandiikibwa Yeyeeri omuwandiisi, ne Maaseya omukungu, nga balabirirwa Kananiya, omu ku baduumizi ba kabaka. Omuwendo gwonna ogw'abakulu be ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi era abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). Bano be bakuliranga eggye ly'abasirikale emitwalo asatu mu kasanvu mu bitaano (307,500), abaasobolanga okulwana n'amaanyi, okuyambanga kabaka okulwanyisa abalabe. Uzziya n'ategekera eggye lyonna engabo, n'amafumu, n'enkuffiira n'ebizibawo eby'ebyuma, n'emitego gy'obusaale, n'amayinja ag'envuumulo. Abasajja be ab'amagezi ne bayiiya ebyuma ebyateekebwa ku minaala ku nsonda za bbugwe okulasa obusaale n'okukasuka amayinja amanene. Ettutumu lye ne lituuka wala, n'aba wa maanyi, olw'obuyambi obungi ennyo bwe yafuna. Kabaka Uzziya bwe yafuna amaanyi, n'afuna muli amalala, n'akola ebikyamu n'anyiiza Mukama Katonda we, kubanga yayingira mu Yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'oterezebwako obubaane. Azaliya kabona ng'ali wamu ne bakabona kinaana (80), abasajja abazira, n'ayingira ng'amuvaako emabega. Ne baziyiza kabaka Uzziya, ne bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, wabula gwa bakabona ab'olulyo lwa Alooni, abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Vva mu kifo ekitukuvu, kubanga oyonoonye, era Mukama Katonda tajja kukuwa kitiibwa.” Awo Uzziya n'asunguwala nnyo, era yali ayimiridde awo ku kyoto kyo obubaane, ng'akutte ekyoterezo kyakwo, awo bwe yasunguwalira bakabona, ebigenge ne bimukwata mu kyenyi nga bakabona balaba. Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, ne balaba nga akwatiddwa ebigenge mu kyenyi, ne banguwa okumufulumya ebweru, era naye yennyini n'ayanguwa okufuluma kubanga Mukama yali amubonerezza. Kabaka Uzziya n'aba omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka, era nga takkirizibwa kuyingira mu nnyumba ya Mukama. Yosamu, mutabani we, n'abanga yakulira ennyumba ya kabaka, ng'ayafuga abantu ab'omu nsi. Ebikolwa ebirala byonna ebya Uzziya, bye yakola okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa nnabbi Isaaya, mutabani wa Amozi. Awo Uzziya naafa, n'aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu lusuku lwa bakabaka, sso si mu masiro ga bassekabaka, kubanga baagamba nti Mugenge. Yosamu mutabani we n'amufuga mu kifo kye. Yosamu yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Yerusa, muwala wa Zadoki. Yosamu n'akolanga ebirungi mu maaso ga Mukama, nga Uzziya kitaawe bye yakolanga, naye obutafaanana nga kitaawe, teyayingira mu Yeekaalu ya Mukama. Abantu bo ne beeyongeranga okukola ebibi. N'azimba Omulyango ogw'Ekyengulu ogw'ennyumba ya Mukama, era n'akola omulimu munene ku bbugwe wa Yerusaalemi ku kitundu ekiyitibwa Oferi. Era n'azimba ebibuga mu bitundu eby'ensozi mu Yuda, ne mu bibira n'azimbamu ebigo n'eminaala. Yosamu n'alwana ne kabaka w'Abamoni n'amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa omusolo gwa talanta kikumi (100) eza ffeeza, n'eŋŋaano ebigero omutwalo gumu (10,000), n'ebya sayiri omutwalo gumu (10,000). Era omusolo bwe gutyo Abamoni era gwe bamusasula mu mwaka ogwokubiri ne mu gw'okusatu. Awo Yosamu n'abeera wa maanyi, kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu, n'entalo zonna zeyalwana, ne by'eyakola, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda. Yosamu yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. Yosamu naafa, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi. Akazi mutabani we n'amusikira. Akazi yali wa myaka abiri (20) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. N'atakola birungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bye yakola. Naye n'atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isiraeri, era n'akola n'ebifaananyi ebisaanuuse ebya Baali. Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'awaayo batabani okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'agoberera emizizo gy'ab'amawanga nga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. N'awangayo ssaddaaka wamu n'okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu, ne ku nsozi, ne wansi wa buli muti omubisi. Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mikono gwa kabaka w'e Busuuli, ne bamuwangula, ne batwala abantu bangi nnyo nga abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Ate era n'amuwaayo mu mikono gwa kabaka wa Isiraeri, eyamuttamu abantu be bangi nnyo. Peka, mutabani wa Lemaliya, yatta mu Yuda mu lunaku lumu, abasajja abazira, emitwalo kkumi n'ebiri (120,000), kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Zikuli omusajja ow'amaanyi owa Efulayimu n'atta Maaseya, mutabani wa kabaka, ne Azulikamu alabirira olubiri lwa kabaka, ne Erukaana eyali addirira kabaka. Abaana ba Isiraeri ne batwala ku baganda baabwe ab'omu Yuda, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, emitwalo abiri (200,000) nga basibe. Era ne babaggyako ebintu bingi, ne batwala omunyago e Samaliya. Naye nnabbi wa Mukama, yali mu Samaliya, erinnya lye Odedi, naye n'afuluma okusisinkana eggye nga likomawo e Samaliya, n'abagamba nti, “Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abawaayo mu mikono gwammwe, era mubassizza obusungu obutuuse mu ggulu. Era kaakano mwagala okufuga abantu b'omu Yuda ne mu Yerusaalemi, okuba abaddu n'abazaana bammwe, naye nammwe temuliiko bibi bye mwakola ne munyiiza Mukama Katonda wammwe? Kale nno mu mpulirize, muzzeeyo abasibe be muwambye ku baganda bammwe, kubanga nammwe Mukama abasunguwalidde.” Awo abamu ku bakulembeze mu Efulayimu: Azaliya mutabani wa Yokanani, Berakiya mutabani wa Mesiremosi, Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, nabo ne bawakanya abo abaava mu ntalo, Ne babagamba nti, “Temuleeta wano abasibe: twakola dda ebibi ne tunyiiza Mukama mu Isiraeri, okwonoona kwaffe kunene, temwongera musango gwaffe kuba munene.” Awo abasserikale ne baleka abasibe n'omunyago mu maaso g'abakulembeze n'ekibiina kyonna. Abasajja abayogeddwako amannya gaabwe, ne basituka ne abo abasibe abaali obwereere ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta. Abatalina maanyi ne babatwalira ku ndogoyi, ne babatuusa e Yeriko, ekibuga eky'enkindu, mu baganda baabwe, bo ne balyoka baddayo e Samaliya. Mu biro ebyo kabaka Akazi n'atumira kabaka w'e Bwasuli okumuyamba. Kubanga Abaedomu baali bazzeemu okulumba Yuda ne batwala abasibe. Era n'Abafirisuuti nabo baali balumbye ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'omu bukiikaddyo obwa Yuda, ne bawamba Besusemesi, Ayalooni, Gederosi ne Soko n'ebyalo byakyo, Timuna ne Gimuzo n'ebyalo byabyo, ne babeeranga omwo. Mukama yafeebya nnyo Yuda olwa Akazi kabaka wa Isiraeri, kubanga yali akoze eby'effujjo, n'ataba mwesigwa n'anyiiza nnyo Mukama. Awo Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja gy'ali, n'amucocca mu kifo ky'okumuyamba. Akazi yaggya ebimu ku bintu mu nnyumba ya Mukama, ne mu nnyumba ya kabaka, ne mu za bakungu, n'abiwa kabaka w'e Bwasuli, era n'ekyo ne kitamuyamba. Kabaka oyo Akazi, ne mu kiseera mwe yalabira ennaku ne yeeyongera bweyongezi okusobya Mukama. N'awaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaali bamuwangudde, Kubanga yagamba nti, “bakatonda ba bakabaka b'e Busuuli babayamba, nange kambawe ssaddaaka bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n'okwa Isiraeri yonna. Akazi n'akuŋŋaanya ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'abyasaayasa byonna, n'aggalawo enzigi z'ennyumba ya Mukama ne yeekolera ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi. Ne mu buli kibuga kya Yuda n'akolamu ebifo ebigulumivu okwotereza obubaane bakatonda abalala, n'asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe. Ebikolwa bye ebirala byonna n'amakubo ge gonna, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri. Akazi naafa ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isiraeri. Keezeekiya mutabani we n'amusikira. Keezeekiya yatandika okufuga nga wa myaka abiri mu etaano (25), n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Abiya, muwala wa Zekkaliya. N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi byonna nga jjajjaawe Dawudi bye yakolanga. Mu mwaka gwe ogusooka mu bufuzi bwe, mu mwezi ogwolubereberye, n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama, n'aziddaabiriza. N'ayingiza bakabona n'Abaleevi n'abakuŋŋaanyiza mu luggya ku ludda olw'ebuvanjuba, n'abagamba nti, “Mumpulirize, mmwe Abaleevi, kaakano mwetukuze, mutukuze n'ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggyemu kyonna ekitali kirongoofu mu kifo ekitukuvu. Kubanga bajjajjaffe baasobya ne bakola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda waffe ebibi, ne bamuvaako, ne bakuba amabega ekifo Mukama mw'abeera. Ne baggalawo enzigi za Yeekaalu, ne bazikiza ettaala, ne batayotereza bubaane, wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu kifo ekitukuvu eri Katonda wa Isiraeri. Obusungu bwa Mukama kye bwava bubeera ku Yuda ne Yerusaalemi, era abafudde ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n'amaaso gammwe. Bajjajjaffe kye baava bagwa n'ekitala, bakazi baffe, batabani baffe ne bawala baffe, kye baava babeera mu busibe. Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, okukyusa obusungu bwe obukambwe butuveeko. Batabani bange, temugayaala, kubanga Mukama abalonze mmwe okuyimiriranga mu maaso ge, okumuweerezanga, mubeerenga abaweereza be, mwotezenga obubaane.” Awo Abaleevi ne batandika okukola, baali: Makasi, mutabani wa Amasayi, Yoweeri, mutabani wa Azaliya, ab'oku lulyo lwa ba Kokasi. Ab'oku lulyo lwa Merali baali: Kiisi, mutabani wa Abudi, Azaliya, mutabani wa Yekalereri. Ab'oku lulyo lwa ba Gerusoni baali: Yowa, mutabani wa Zimma, ne Edeni, mutabani wa Yowa. Abo mu lulyo lwa Erizafani: Simuli ne Yeweri. Ab'olulyo lwa Asafu: Zekkaliya ne Mattaniya. Ab'olulyo lwa Kemani: Yekweri ne Simeeyi, n'abo lulyo lwa Yedusuni baali: Semaaya ne Wuziyeeri. Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza, ne bayingira mu nnyumba ya Mukama, okugitukuza ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali, nga bagoberera ebigambo bya Mukama. Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama, ne batukuzamu. Ne bafulumya ebitali birongoofu byonna ebyasangibwa mu Yeekaalu ya Mukama, ne babireeta mu luggya olw'ennyumba ya Mukama. Abaleevi ne babitwala ebweru ne babisuula mu kagga Kidulooni. Baatandika okugitukuza ku lunaku olusooka olw'omwezi ogwolubereberye. Ku lunaku olw'omunaana olw'omwezi ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga balongoosa ennyumba ya Mukama. Ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogwo ne bamalira ddala. Awo ne balyoka bagenda ewa Keezeekiya kabaka ne bamugamba nti, “Tumaze okulongoosa ennyumba ya Mukama yonna n'ekyoto ekiweerwako ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebintu byakyo byonna n'emmeeza ey'emigaati egy'okulaga n'ebintu byayo byonna. Era ne bintu byonna kabaka Akazi bye yasuula, bwe yayonoona nga ye afuga, tubitegese ne tubitukuza, era biri mu maaso g'ekyoto kya Mukama.” Awo Keezeekiya kabaka n'agolokoka mu makya, n'akuŋŋaanya abakulu b'ekibuga, n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama. Ne baleeta ente musanvu, n'endiga ennume musanvu, n'abaana b'endiga musanvu n'embuzi ennume musanvu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ku lw'obwakabaka ne ku lwa watukuvu ne ku lwa Yuda. N'alagira bakabona bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama. Awo ne batta ente ennume, bakabona ne batoola omusaayi gwazo ne bagumansira ku kyoto, ne batta embuzi ennume, ne bamansira omusaayi ku kyoto, ne batta n'abaana b'endiga, ne bamansira omusaayi ku kyoto. Ne baleeta embuzi ennume mu maaso ga kabaka n'ekibiina, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ne baziteekako emikono. Bakabona ne bazitta ne bawaayo omusaayi gwazo ku kyoto, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okutangirira Isiraeri yenna: kubanga kabaka yalagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi olwa Isiraeri yenna. N'ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ng'ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka, ne Nasani nnabbi bwe kyali. Kubanga ekiragiro kyava eri Mukama nga kiyita mu bannabbi be. Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga balina amakkondeere. Keezeekiya n'alagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Awo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyatandika okuweebwayo, ne batandika n'okuyimbira Mukama, wamu n'okufuuwa amakkondeere n'okukuba ebivuga bya Dawudi ssekabaka wa Isiraeri. Awo ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n'abafuuwa amakkondeere ne bafuuwa. Byonna ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo. Awo bwe baamalira ddala okuwaayo, kabaka n'abaaliwo bonna ne bavuunama ne basinza. Keezeekiya kabaka n'abakulembeze ne balagira Abaleevi okuyimba ennyimba ezitendereza Mukama, ezaayiiyizibwa Dawudi ne Asafu omulabi. Ne bayimba n'essanyu okutendereza ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza. Awo Keezeekiya n'agamba nti, “Kaakano nga bwe mwewonze eri Mukama, musembere muleete ssaddaaka n'ebiweebwayo olw'okwebaza mu nnyumba ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaza. Era bonna abaalina omutima ogwagala ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa. Omuwendo gw'ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina bye kyaleeta gwali: ente ennume nsanvu (70), endiga ennume kikumi (100), n'abaana b'endiga bibiri (200), ebyo byonna nga bya kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Ebirala bye baleeta ebyawongebwa byali: ente lukaaga (600), n'endiga enkumi ssatu (3,000). Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza, omulimu ne guggwa. Abaleevi bassaayo nnyo omwoyo okwetukuza okusinga bakabona. Ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo, wamu n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebya buli kiweebwayo ekyokebwa. Awo okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama ne kuzzibwawo bwe kutyo. Awo Keezeekiya n'abantu bonna n'ebasanyuka, kubanga Katonda yabayamba ne bakola ebyo byonna mu bbanga ettono ddala. Awo Keezeekiya n'atumira ab'omu Isiraeri bonna n'ab'omu Yuda, era n'awandiikira ne Efulayimu ne Manase ebbaluwa, bajje mu nnyumba ya Mukama e Yerusaalemi, okukwata Embaga ey'Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isiraeri. Kabaka yali ateesezza ne bakungu be, n'ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi, okukwata Embaga Okuyitako mu mwezi ogwokubiri. Kubanga baali tebaasobola kukwata mbaga mu kiseera ekyo, kubanga bakabona baali batono abeetukuzizza, era nga n'abantu tebannakuŋŋaanira e Yerusaalemi. Awo kabaka n'ekibiina kyonna, ne basiima enteekateeka eyo. Awo ne balangirira mu Isiraeri yonna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isiraeri e Yerusaalemi: kubanga bangi baali tebaagikwatangako nga bwe kiragirwa. Awo ababaka ne batwala amabbaluwa mu Isiraeri yonna ne mu Yuda, okuva ewa kabaka n'abakungu be bagenda nga balina ebbaluwa ezaava eri kabaka n'abakulu be, ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti, “Mmwe abaana ba Isiraeri, ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye okutwalibwa bakabaka b'e Bwasuli, mukyuke mudde eri Mukama, Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, naye alyoke adde gye muli. So temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abaanyiiza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, n'abawaayo okuzikirizibwa nga bwe mulaba. Kale mmwe temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali; naye mweweeyo eri Mukama, mujje mu nnyumba ye gye yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, ekiruyi kye kibaveeko. Kubanga bwe munaakyuka ne mudda eri Mukama, olwo baganda bammwe n'abaana bammwe banaalaba ekisa n'okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, ne bakomawo mu nsi eno: kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, asaasira, so taakyuse amaaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.” Awo ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu n'eya Manase, ne batuuka ne Zebbulooni. Naye abantu babasekerera era ne babaduulira. Wabula abamu okuva mu kika kya Aseri, Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bajja e Yerusaalemi. Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu, ne baba n'omutima gumu, okukola ekyo n'abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama. Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokubiri okukwata embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa. Ne basituka ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi, n'ebyoto byonna eby'okwoterezaako obubaane ne babiggyawo, ne babisuula mu kagga Kidulooni. Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwokubiri, ne balyoka batta omwana gw'endiga ogw'Embaga Okuyitako. Ekyo ne kikwasa bakabona n'Abaleevi ensonyi, ne beetukuza ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama. Ne bayimirira mu kifo kyabwe nga bwe baalagirwa mu Mateeka ga Musa, omusajja wa Katonda. Abaleevi ne baweereza bakabona omusaayi bo ne bagumansira. Kubanga mu kibiina mwalimu bangi abaali tebeetukuzizza, Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu omwana gw'endiga ogw'Embaga ey'Okuyitako, okubatukuza eri Mukama. Newakubadde ng'abantu abasinga mu baali bavudde mu kika kya Efulayimu, Manase, Isakaali ne Zebbulooni, baali tebeetukuzizza, naye ne bamala galya Okuyitako, naye si nga bwe kyalagirwa. Naye kabaka Keezeekiya n'abasabira ng'agamba nti, “Mukama ow'ekisa asonyiwe buli muntu, amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newakubadde nga tatukuziddwa nga amateeka ga watukuvu ag'okutukuza bwe gali.” Awo Mukama n'awulira okusaba kwa Keezeekiya, n'atabakolako kabi. Abaana ba Isiraeri abaali bali e Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey'Emigaati egitazimbulukusiddwa okumala ennaku musanvu n'essanyu lingi. Abaleevi ne bakabona ne batendereza Mukama buli lunaku, n'amaanyi, nga bakuba n'ebivuga. Keezeekiya n'ayogera ebigambo ebizzamu amaanyi Abaleevi abaalaga bwe bamanyi obulungi okuweereza Mukama. Abantu ne bamala ennaku omusanvu nga balya emmere ey'embaga, nga bawaayo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe, era nga beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Awo ekibiina kyonna ne bakkiriziganya okwongerayo ennaku endala musanvu endala nga bali ku mbaga. Bwe batyo ne bamala ennaku endala musanvu nga basanyuka. Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'awa ekibiina ente ennume lukumi (1,000) n'endiga kasanvu (7,000) okuba ez'ekiweebwayo, n'abakungu ne bawa ekibiina ente lukumi (1,000) n'endiga omutwalo gumu (10,000 ). Ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza. Ekibiina kyonna ekya Yuda wamu ne bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna abaava mu Isiraeri, n'abagenyi abaali mu nsi ya Isiraeri ne mu Yuda, ne basanyuka. Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi, kubanga okuva mu biseera bya Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri, tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi. Awo bakabona n'Abaleevi ne basituka ne basabira abantu omukisa. Katonda n'awulira eddoboozi lyabwe, okusaba kwabwe ne kutuuka mu kifo ekitukuvu gy'abeera, mu ggulu. Awo ebyo byonna bwe byaggwa, Abaisiraeri bonna abaali bali awo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi ez'amayinja, ne bifaananyi bya Asera, ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n'ebyoto ebyali mu Yuda, mu Benyamini, mu Efulayimu ne mu Manase. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne baddayo ewaabwe mu bibuga byabwe, mu butaka bwabwe. Awo Keezeekiya n'azzaawo empalo za bakabona n'Abaleevi nga bwe zaali, mu kuweereza kwabwe, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okwebazanga n'okutendererezanga mu nnyumba ya Mukama. Kabaka n'atoola ku bintu ebibye ku bubwe, n'awaayo omutemwa ogw'ebiweebwayo ebyokebwa eby'enkya n'eby'akawungeezi, n'ebiweebwayo ebya Ssabbiiti n'eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama. Era n'alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo gwa bakabona n'Abaleevi, era nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu mateeka ga Mukama. Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna, amangu ago abaana ba Isiraeri ne baleeta mu bungi ebibereberye eby'eŋŋaano n'omwenge, amafuta ag'Omuzeyituuni, omubisi gw'enjuki n'ebibala byonna eby'omu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky'ekkumi ku buli kintu. Abaana ba Isiraeri n'ab'omu Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'ente n'endiga, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ne byawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo. Mu mwezi ogwokusatu mwe baatandikira okutuuma entuumo ne bazimaliriza mu mwezi ogw'omusanvu. Awo Keezeekiya n'abakungu bwe bajja ne balaba entuumo, ne beebaza Mukama n'abantu be Isiraeri. Awo Keezeekiya n'abuuza bakabona n'Abaleevi ebikwata ku ntuumo. Azaliya kabona asinga obukulu ow'omu nnyumba ya Zadoki n'amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebitone mu nnyumba ya Mukama, tulya emmere ne tukkuta ne tulemerwanawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n'ebyo ebifisseewo bye nkana wano obungi.” Awo Keezeekiya n'alagira bateeketeeke ebisenge mu nnyumba ya Mukama, ne babitegeka. Ne balyoka bayingiza ebitone n'ebitundu eby'ekkumi, n'ebintu ebyawongebwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebintu ebyo, ne Simeeyi muganda we nga y'amuddirira. Yekyeri, Azaziya, Nakasi, Asakeri, Yerimosi, Yozabadi, Eryezi, Isumskiya, makasi ne Benaya be baabayambangako, baalondebwa Keezeekiya kabaka ne Azaliya omukulu w'ennyumba ya Katonda. Ne Koole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba, ye yali avunaanyizibwa ebyo bye baawaayo eri Katonda ku bwabwe, nga ye yagabanyamu ebirabo bya Mukama n'ebintu ebitukuvu ennyo. Edene, Miniyamini, Yesuwa, Semaaya, Amaliya, ne Sekaniya, nga be basajja abeesigwa abaamuyambangako mu bibuga bya bakabona, okugabiranga baganda baabwe ebintu mu bibinja byabwe, abakulu n'abato. Okwo tekwali abo abaali bawandiikiddwa mu kitabo ekiraga endyo z'obuzaale bwabwe nga bwe ziri, abasajja n'abaana ab'obulenzi bonna, okuva ku myaka esatu n'okusingawo, abo bonna abayingiranga mu nnyumba ya Mukama, okukola emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu mpalo zaabwe. Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe n'Abaleevi abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okukirawo, ne babagabira ebyabwe ng'empalo zaabwe bwe zaali. Omwo mwe mwali bakazi baabwe, n'abaana baabwe abato n'abakulu, ab'obulenzi n'ab'obuwala, abaawandiikibwa ng'okuzaalibwa kwabwe, kubanga beetukuza okukola omulimu gwabwe ekiseera kyonna. Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaali mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n'ab'Abaleevi bonna abaali bawandiikiddwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Bwatyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi, era ebituufu n'obwesigwa. Buli mulimu gwonna gwe yatandika mu kuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda, ng'agoberera amateeka ne biragiro, n'okunoonya Katonda we n'agukola n'omutima gwe gwonna, n'alaba omukisa. Oluvannyuma lw'ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n'obwesigwa bwe byagwa, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'alumba Yuda, n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'alowooza mu mutima gwe okubyetwalira. Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng'amaliridde okulwanyisa Yerusaalemi, n'ateesa n'abakungu be n'abasajja be ab'amaanyi okuziba ensulo z'amazzi ezaali ebweru w'ekibuga, ne bamuwagira. Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba ensulo ez'amazzi n'akagga akayita mu kitundu ekyo, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b'e Bwasuli basanga amazzi amangi nga bazze?” N'aguma omwoyo n'azimba ekisenge kyonna ekyali kimenyese n'akisitula okwenkana n'eminaala. N'azimba n'ekisenge ekirala ebweru waakyo. N'anyweza mu Kibuga kya Dawudi ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda ekiyitibwa Mirro. N'akola eby'okulwanyisa n'engabo bingi nnyo ddala. N'ateekewo abaduumizi b'amagye okulabiriranga abantu, era n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu kifo ekigazi ku wankaaki w'ekibuga, n'ayogera nabo ebigambo eby'okubagumya, nga agamba nti, “Mube n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w'e Bwasuli, newakubadde olw'egye lyonna eriri naye, kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye: Ye ali wamu n'eggye ery'abantu, naye tuli wamu ne Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda. Oluvannyuma lw'ebyo, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli yali ng'azingizizza Lakisi n'amagye ge gonna, n'atuma abaddu be eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'eri abantu ba Yuda bonna abaali e Yerusaalemi, ng'agamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli nti Mwesiga ki n'okulinda ne mulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemi? Keezeekiya tababuuzaabuza okubawaayo muffe enjala n'ennyonta, ng'agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe ajja kubawonya mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?’ Keezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'alagira Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto ekimu kyokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane? Temumanyi nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag'omu nsi endala? Bakatonda b'amawanga ag'omu nsi ezo baasobola okuwonya ensi zaabwe mu mukono gwange? Katonda ki ku bakatonda bonna ab'amawanga gali bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange, Katonda wammwe asobole okubawonya mu mukono gwange? Kale nno Keezeekiya aleme okubalimba newakubadde okubabuzabuza bw'atyo, so temumukkiriza: kubanga tewali katonda ow'eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange. Kale olwo Katonda wammwe anaabawonya atya okubaggya mu mukono gwange?” Abakungu be ne beeyongera okuvuma Mukama Katonda, n'omuddu we Keezeekiya. Era n'awandiika ebbaluwa okuvvoola Mukama Katonda wa Isiraeri, n'okumwogerako obubi nti, “Nga bakatonda b'amawanga ag'omu nsi endala bwe bataawonya bantu baabwe mu mukono gwange, bw'atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw'atajja kuwonya bantu be mu mukono gwange.” Ababaka ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya eri abantu ab'e Yerusaalemi abaali ku bbugwe, okubatiisa, n'okubakanga, bo balyoke bawambe ekibuga. Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe boogera ku bakatonda ab'amawanga ag'omu nsi, abakolebwa n'emikono gy'abantu. Awo Keezeekiya kabaka ne nnabbi Isaaya, mutabani wa Amozi ne basaba Katonda, ne bamwegayirira ku nsonga eyo. Mukama n'atuma malayika n'asaanyaawo abasajja bonna ab'amaanyi abazira n'abaduumizi b'eggye mu lusiisira lwa kabaka w'e Bwasuli. Sennakeribu n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Awo bwe yatuuka mu ssabo lya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutemula n'ekitala. Bw'atyo Mukama bwe yawonya Keezeekiya n'abo abaali mu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, ne mu mukono gw'abalala bonna n'abaluŋŋamya enjuyi zonna. Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, Keezeekiya kabaka wa Yuda, ne bamuwa ebintu eby'omuwendo omungi. N'okuva ku lunaku olwo n'aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna. Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. N'asaba Mukama amuwonye, Mukama n'amuddamu n'akabonero nti ajja kuwona. Naye Keezeekiya n'ateebaza olw'ekisa ekya mukolerwa, olwa malala agaali mu ye. obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubukira ku ye, ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi. Oluvannyuma Keezeekiya n'abantu b'omu Yerusaalemi ne beetoowaza olw'amalala ag'omutima gwe, obusungu bwa Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya. Keezeekiya yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini, ne yeezimbira amawanika ag'okuterekamu ffeeza ne zaabu, amayinja ag'omuwendo omungi, n'eby'akaloosa, n'engabo, n'ag'ebintu byonna ebirungi. N'azimba n'amaterekero g'eŋŋaano, n'omwenge, n'amafuta. N'azimba n'ennyumba ez'ebisolo ebirundibwa ebya buli ngeri, n'ebisibo by'endiga. Era ne yeezimbira ebibuga, n'afuna endiga, embuzi n'ente, bingi nnyo, kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo ddala. Era Keezeekiya oyo ye yaziba omukutu gw'amazzi ogw'engulu ogw'Oluzzi lwa Gikoni, n'agatemera ogwo ogw'okugaserengesa ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga kya Dawudi. Keezeekiya yalina omukisa mu mirimu gye gyonna. Naye mu bigambo by'ababaka abaatumibwa abakulu b'e Babbulooni okumubuuza ku ky'amagero ekyakolebwa mu nsi, Katonda n'amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe. Ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya, n'ebirungi bye yakola, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi, ne mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri. Keezeekiya naafa, ne bamuziika mu kitundu ekya waggulu mu masiro ga bazzukulu ba Dawudi. Yuda yenna n'ab'omu Yerusaalemi ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Manase mutabani we n'amusikira. Manase yali wa myaka kkumi n'ebiri (12) bwe yatandikira okufuga, n'afugira emyaka ataano mu etaano (55) mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri. Kubanga yazimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yamenyaamenya; n'asimbira Baali ebyoto n'akola ebifaananyi bya Asera, n'asinza byonna ebyakira mu ggulu n'aliweerezanga. N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” Era n'azimbira ebyakira mu byonna ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama. Era n'awaayo abaana be ng'ekiweebwayo, ne bookebwa mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n'alaguza ebire n'akola eby'obulogo n'eby'obuganga, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo. N'akola ebibi bingi n'asunguwaza nnyo Mukama. N'addira ekifaananyi ekyole kye yakola n'akiteeka mu nnyumba ya Katonda, Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu nnyumba eno, ne mu Yerusaalemi ekibuga kye nneerobozezza mu bika byonna ebya Isiraeri, mmwe nnaateekanga erinnya lyange emirembe gyonna. Sijjululenga nate kigere kya Isiraeri okuva mu nsi gye nnawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola byonna bye mbalagidde, nga bakwata amateeka gonna, n'ebiragiro n'obulombolombo bye nnabawa nga mbiyisa mu Musa.” Manase n'awabya Yuda n'abali mu Yerusaalemi ne bakola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g'abaana ba Isiraeri. Mukama n'ayogera ne Manase n'abantu be, naye ne batassaayo mwoyo. Mukama kyeyava aleka abaduumizi b'eggye lya kabaka w'e Bwasuli, ne batwalira Manase mu njegere, ne bamusiba n'amasamba, ne bamutwala e Babbulooni. Awo bwe yalaba ennaku, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. N'amusaba, Mukama n'awulira okwegayirira kwe, n'amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n'amanya Mukama nga ye Katonda. Awo oluvannyuma lw'ebyo n'azimba bbugwe ow'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku ludda lwa Gikoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw'Ebyennyanja, n'okutuuka mu kitundu ky'ekibuga ekiyitibwa Oferi, n'akigulumiza waggulu ddala, n'ateeka abaduumizi b'amagye mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko ebigo. N'aggyawo bakatonda ab'amawanga n'ekifaananyi ekyole kye yali atadde mu nnyumba ya Mukama, n'ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi olw'ennyumba ya Mukama ne mu Yerusaalemi, byonna n'abisuula ebweru w'ekibuga. N'azimba obuggya ekyoto kya Mukama n'aweerayo okwo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe n'ez'okwebaza, n'alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isiraeri. Naye abantu bo ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, newakubadde nga baaziwangayo eri Mukama Katonda waabwe yekka. Ebikolwa ebirala byonna ebya Manase n'okusaba kwe yasaba Katonda we, n'ebigambo by'abalabi abaayogeranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri, byawandiikibwa mu kitabo kye bikolwa bya bassekabaka ba Isiraeri. Okusaba kwe n'okuddamu kwa Katonda, ebibi bye byonna, n'okusobya kwe n'ebifo ebigulumivu bye yazimba, n'ebifaananyi bya Asera byeyakola, nga tannaba kwetoowaza, byonna byawandiikibwa mu byafaayo bya Kozayi. Manase naafa, ne bamuziika mu lubiri lwe, Amoni, mutabani we n'amusikira. Amoni yali wa myaka abiri mu ebiri (22) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi. N'akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bye yakola. Amoni n'awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi ebyole byonna, Manase kitaawe bye yakola, n'abisinzanga. Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, n'ateetoowaliza Mukama, wabula ne yeeyongera bweyongezi okusobya. Abaddu be ne bamukolera olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. Naye abantu ab'omu nsi ne batta bonna abeekobaana okutta kabaka Amoni, ne bafuula Yosiya, mutabani we, kabaka mu kifo kye. Yosiya yali wa myaka munaana we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka asatu mu gumu (31) mu Yerusaalemi. N'akolanga ebirungi mu maaso ga Mukama, n'atambuliranga mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n'atakyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okugavaamu. Kubanga mu mwaka ogw'omunaana ogw'okufuga kwe, ng'akyali muto, n'atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe. Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) mwe yatandikira okuggya mu Yuda ne mu Yerusaalemi ebifo ebigulumivu, ne bifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'ebifaananyi ebisaanuuse. Ne bamenyamenyera ebyoto bya Baali mu maaso ge, n'ebifaananyi by'enjuba ebyali waggulu ku byo n'abitemaatema, ne bifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'ebifaananyi ebisaanuuse n'abimenyaamenya n'abifuula enfuufu n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga. Era n'ayokera amagumba ga bakabona ku byoto byabwe, n'alongoosa Yuda ne Yerusaalemi. Era bw'atyo bwe yakola ne mu bibuga bya Manase, n'ebya Efulayimu, n'ebya Simyoni okutuukira ddala mu bya Nafutaali, ne mumatongo gaabyo okubyetooloola. N'amenyaamenya ebyoto, n'asekulasekula ebifaananyi bya Asera, n'ebifaananyi ebyole, n'abifuula enfuufu, n'atemaatema ebyoto byonna kwe bayooterezanga obubaane, ebyali mu ensi yonna eya Isiraeri, n'akomawo e Yerusaalemi. Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'okufuga kwe, ng'amaze okulongoosa ensi ne Yeekaalu, n'atuma Safani, mutabani wa Azaliya, ne Maaseya eyafuga ekibuga, ne Yowa, mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza ennyumba ya Mukama Katonda we. Ne bagenda eri Kirukiya, kabona asinga obukulu, ne bawaayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abaggazi gye baali basoloozezza mu bantu ba Manase ne Efulayimu, ne mu bitundu ebirala byonna ebya Isiraeri, ne mu Yuda yonna, ne mu Benyamini, ne ku b'omu mu Yerusaalemi. Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwe ennyumba ya Mukama. Abo be basasulanga abakozi abaddaabirizanga n'okulongoosa ennyumba ya Mukama. Ne bawa ababazzi n'abazimbi effeeza okugula amayinja amabajje, n'emiti egy'okuddaabiriza ennyumba, bassekabaka ba Yuda ze baalagajjalira okuddaabiriza. Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa. Abaabalabiriranga baali bano: Yakasi ne Obadiya, Abaleevi ab'omu lulyo lwa Merali; Zekkaliya ne Mesullamu, ab'omu lulyo lwa Kokasi. Abaleevi bonna baali bakugu mu kukuba ebivuga. Era be baalabiriranga abeetissi b'ebintu, ne bakozesa bonna abaakolanga emirimu egya buli ngeri. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi n'abalala nga be bakulira abaggazi. Awo bwe baali baggyayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Mukama, Kirukiya kabona n'alaba ekitabo eky'Amateeka, Mukama ge yawa nga ayita mu Musa. Awo Kirukiya n'agamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo ekyamateeka, mu nnyumba ya Mukama.” Kirukiya n'awa Safani ekitabo. Awo Safani n'atwala ekitabo ekyo eri kabaka, era n'ategeeza ne kabaka nti, “ Byonna abaddu bo bye baalagirwa baabikola. Era baggyeemu effeeza ezibadde mu nnyumba ya Mukama, ne bazikwasa abalabirira omulimu n'abakozi.” Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Safani n'akisomera kabaka. Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'omu Kitabo ky'Amateeka, n'ayuza ebyambalo bye. Awo kabaka n'alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni, mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng'agamba nti, “mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abo abaasigalawo mu Isiraeri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obufukiddwa ku ffe bungi, kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama, okukola nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo kino.” Awo Kirukiya n'abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi, muzzukulu wa Kasula, omuwanika w'ebyambalo, eyabeeranga mu Yerusaalemi, mu kitundu ekipya. Ne boogera naye ku nsonga eyo. N'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti: Mugambe omusajja obatumye gye ndi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomedde kabaka wa Yuda: kubanga banvuddeko ne bookereza obubaane bakatonda abalala, era bansunguwaziza n'emirimu gyonna egy'engalo zaabwe. Obusungu bwange kyebuvudde bufukibwa ku kifo kino, era tebujja kuzikira.’ Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde, ebifa ku kifo kino, n'abo abakibeeramu, omutima gwo ne guba mugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo, n'okaaba amaziga mu maaso gange, nange nkuwulidde. Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo n'oziikibwa mu ntaana yo mirembe, so toliraba bubi bwonna bwe ndituusa ku kifo kino ne ku abo abakirimu.’ ” Ne baddayo ne babuulira kabaka ebigambo ebyo. Awo kabaka n'atuma, n'akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yerusaalemi. Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi, ne bakabona n'Abaleevi, n'abantu bonna, abakulu n'abato: n'asoma nga bawulira ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano, ekyazuulibwa mu nnyumba ya Mukama. Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, okumuwuliranga, okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, okutuukirizanga ebigambo by'endagaano ebyawandiikibwa mu kitabo kino. Awo n'akubiriza bonna abaaliwo mu Yerusaalemi na ba Benyamini okukakasa nti bajja kugikuuma. Abo abaali mu Yerusaalemi ne bakola ng'endagaano ya Katonda wa bajjajjaabwe, bwe yali. Yosiya n'aggya eby'emizizo byonna, mu bitundu byonna ebya abaana ba Isiraeri. N'akubiriza bonna abaali mu Isiraeri, okuweereza Mukama, Katonda waabwe. Mu mulembe gwe gwonna, tebaalekayo kuweereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Awo Yosiya n'akwata Embaga ey'Okuyitako kulwa Mukama mu Yerusaalemi. Ne batta omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwolubereberye. N'ateeka bakabona mu bifo eby'obuvunaanyizibwa bwabwe mu nnyumba ya Mukama, n'abakubiriza okukola obulungi. N'agamba Abaleevi abaayigirizanga Isiraeri yenna, era abatukuvu eri Mukama, nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu Yeekaalu, Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri gye yazimba. Si yakwetikanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n'abantu be Isiraeri. Era mweteeketeeke ng'ennyumba za bakitammwe bwe ziri mu mpalo zammwe, nga mugoberera entegeka eyawandiikibwa Dawudi kabaka wa Isiraeri, ne Sulemaani mutabani we. Era muyimirire mu Kifo Ekitukuvu, nga mugoberera ebibinja by'ennyumba za bajjajja ba baganda bammwe abatali Baleevi, buli kibinja kibeeko ab'ennyumba ya bajjajja b'Abaleevi. Era mutte omwana gw'endiga ogw'Embaga ey'Okuyitako, mwetukuze, era muteekereteekere baganda bammwe okukola nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.” Awo Yosiya n'atoola okuva mu bisibo bye abaana b'endiga n'ab'embuzi, emitwalo esatu (30,000), n'ente ennume enkumi ssatu (3,000), n'aziwa abantu bonna abaaliwo abatali Baleevi okuba ebiweebwayo olw'Embaga ey'Okuyitako. N'abakungu be nabo ku lwabwe, ne bawa abantu ne bakabona n'Abaleevi ebintu eby'okukozesa. Kirukiya, Zekkaliya ne Yekyeri, abakulira ennyumba ya Katonda, ne bawa bakabona abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi bbiri mu lukaaga (2,600), n'ente ennume bisatu (300) okuba eze biweebwayo olw'Okuyitako. Konaniya, Semaaya, Nesaneeri, baganda be, ne Kasabiya, Yeyeeri ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b'endiga n'ab'embuzi enkumi ttaano (5,000), okuba ebiweebwayo olw'Okuyitako. Bwe kutyo okweteekateeka okw'okuweereza bwe kwaggwa, bakabona ne bayimirira mu kifo kyabwe, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali. Ne batta omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, Abaleevi ne bagubaaga, bakabona ne bamansira omusaayi, nga gubaweebwa Abaleevi. Ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa, babigabire abantu abatali Baleevi, mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama balyoke babawe ng'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, okuwaayo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ne ku ente. Ne bookya omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, nga bwe kiragirwa. N'ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumba mu ntamu ne mu sseffuliya ne mu nsaka, ne babitwala mangu abantu bonna abatali Baleevi. Oluvannyuma Abaleevi ne beeteekerateekera bokka ne baateekerateekera ne bakabona ab'olulyo lwa Alooni, kubanga bakabona tebaalina bbanga olw'omulimu ogw'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu okuzibya obudde: Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bokka era ne baateekereteekera ne bakabona ab'olulyo lwa Alooni. N'abayimbi ab'olulyo lwa Asafu baali mu kifo kyabwe, nga Dawudi, ne Asafu ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka bwe balagira. N'abaggazi baali ku buli luggi, tebaava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera. Bwe kutyo okuweereza kwonna okwa Mukama ne kuteekebwateekebwa ku lunaku olw'okukwata Okuyitako, n'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama, ng'ekiragiro kya kabaka Yosiya bwe kyali. Abaana ba Isiraeri abaaliwo mu kiseera ekyo ne bakwata Okuyitako, n'embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, okumala ennaku musanvu. Yali tewabangawo mbaga ya ng'eyo mu Isiraeri, okuva ku biro bya Samwiri nnabbi, ng'eyaliwo mu kiseera kya Yosiya. Bakabona, n'Abaleevi n'ab'omu Yuda bonna, n'ab'omu Isiraeri, n'ab'omu Yerusaalemi baaliyo. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa Yosiya, mwe baakwatira Okuyitako okwo. Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Yosiya ng'amaze okuteekateeka Yeekaalu, Neeko kabaka w'e Misiri n'alumba Kalukemisi ku Mugga Fulaati: Yosiya n'agenda okumulwanyisa. Naye Neeko n'amutumira ababaka ng'agamba nti, “Onvunaana ki, ggwe kabaka wa Yuda? Ku mulundi guno sizze kulumba ggwe, wabula ennyumba gye nnwana nayo, Katonda andagidde okwanguwa. Vva ku Katonda ali nange, aleme okukuzikiriza.” Naye Yosiya n'atamuwuliriza bigambo bya Neeko, Katonda bye yamwogeza, naye ne yeefuulafuula n'agenda okulwanira mu kiwonvu Megiddo. Abalasi b'obusaale ne balasa kabaka Yosiya; kabaka n'agamba abaddu be nti, “Munziggyeewo, kubanga nfumitiddwa nnyo.” Awo abaddu be ne bamuggya mu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye eryokubiri lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi; n'afa n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Ab'omu Yuda bonna n'ab'omu Yerusaalemi ne bakaabira Yosiya. Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya, n'abayimbi bonna abasajja n'abakazi ne bagifuula mpisa mu Isiraeri, okuyimba ku Yosiya nga bamukungubagira n'okutuusa ne leero. Era ennyimba zaabwe zaawandiikibwa mu z'okukungubaga. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya n'ebirungi bye yakola ng'agoberera ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama, n'ebikolwa bye ebyasooka n'eby'asembayo byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda. Awo abantu ab'omu Yuda ne baddira Yekoyakaazi, mutabani wa Yosiya ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe mu Yerusaalemi. Yekoyakaazi yali wa myaka abiri mu esatu (23) we yatandikira okufuga, n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi. Kabaka w'e Misiri n'amugoba ku ntebe e Yerusaalemi, n'aweesa ensi omusolo gwa talanta kikumi (100) eza ffeeza ne talanta emu eya zaabu. Neeko, Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi, okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'akyusa erinnya lye n'amutuuma Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi e Misiri. Yekoyakimu yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi. Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'amulumba, n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babbulooni. Era Nebukadduneeza n'atwala ku bintu eby'omu nnyumba ya Mukama e Babbulooni, n'abiteeka mu lubiri lw'e Babbulooni. Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye yakola n'ebyo bye yasobya, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n'amusikira. Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yatandikira okufuga, n'afugira emyezi esatu ne ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. Awo mu kiseera ky'omwaka ebimera mwe bitojjerera, kabaka Nebukadduneeza n'amutumya n'abamuleeta e Babbulooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu nnyumba ya Mukama, n'ateekawo Zeddekiya muganda wa Yekoyakini okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi. Zeddekiya yali wa myaka abiri mu gumu (21) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi, n'ateetoowaliza Yeremiya nnabbi, eyamubuuliranga ebyavaanga ewa Mukama. Era n'ajeemera kabaka Nebukadduneeza eyali amulayizza Katonda nti anaamuwuliranga, naye n'aguguba n'akakanyaza omutima gwe, n'atakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri. Era nate bakabona bonna abakulu, n'abantu ne basobya nnyo, ne bagobereranga emizizo gyonna egy'ab'amawanga, ne boonoona ennyumba ya Mukama gye yatukuza mu Yerusaalemi. Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'abatumiranga ababaka be, awatali kwosa, kubanga yasaasira abantu be n'ekifo mw'abeera: naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa Mukama lwe yasunguwalira ennyo abantu be, nga takyayinza kubasonyiwa. Kyeyava aleeta kabaka w'Abakaludaaya okubalwanyisa, n'attira abalenzi baabwe n'ekitala mu nnyumba ya Mukama, ne batasaasira mulenzi newakubadde omuwala, omukadde newakubadde akootakoota. Katonda bonna yabawaayo mu mukono gwe. N'ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Katonda, ebinene ne bitono, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga bya kabaka, n'eby'abakungu be, byonna n'abireeta e Babbulooni. Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi. N'abo abaawona okuttibwa n'abatwala e Babbulooni ne baba baddu be, ne baba batabani be, okutuusa ku bufuzi bw'obwakabaka bw'Abaperusi. Ekyo kyabaawo okutuukiriza ekigambo kya Mukama kye yayogera nga ayita mu Yeremiya nti, “Ensi eribeera matongo okumala emyaka nsanvu (70), okusasula Ssabbiiti ezitaakuumibwa.” Awo mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, Mukama n'atuukiriza ekigambo kye kye yayogera ng'ayita mu Yeremiya. Mukama n'akubiriza Kuulo kabaka w'e Buperusi, okufulumya ekirangiriro mu bwakabaka bwe bwonna, nga kiwandiikiddwa nti: “Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Kale buli ali mu mmwe ku bantu be, ayambukeyo, Mukama Katonda we abeere wamu naye.” Awo mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama kye yayogera nga ayita mu Yeremiya ne kituukirira. Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi n'okulangirira n'alangirira okubunya obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'agamba a nti, “Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti, Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda abeere naye, era ayambuke e Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, ye Katonda ali mu Yerusaalemi. Era buli akyasigaddewo mu kifo kyonna mw'abeera nga mugenyi, abasajja ab'omu kifo kye bamuyambe, nga bamuwa ffeeza ne zaabu n'ebintu, n'ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi.” Awo abakulu b'ennyumba mu bika, ekya Yuda n'ekya Benyamini, ne bakabona n'Abaleevi, bonna Katonda be yakubiriza omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi. Awo abo bonna ababeetolodde ne banyweza emikono gyabwe n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu n'ebisolo, n'ebintu eby'omuwendo omungi obutassaako ebyo byonna bye bawaayo ku bwabwe. Era Kuulo kabaka n'afulumya ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza bye yaggya mu Yerusaalemi n'abiteeka mu ssabo lya bakatonda be. Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya n'abikwasa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazzali omukulu wa Yuda. Era guno gwe muwendo gwabyo: essowaani eza zaabu asatu (30), essowaani eza ffeeza lukumi (1,000), obwambe abiri mu mwenda (29), ebibya ebya zaabu asatu (30), ebibya ebya ffeeza eby'omutindo ogwokubiri bina mu kkumi (410), n'ebibya ebirala lukumi (1,000). Essowaani zonna eza zaabu n'eza ffeeza zaali enkumi ttaano mu bina (5,400). Ebyo byonna Sesubazzali yabiggyayo n'abireeta, abanyage bwe baggibwa e Babbulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi. Era bano be bantu ab'omu ssaza, abaayambuka okuva mu busibe bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni be yatwala e Babbulooni, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe. Bajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Seraya, Leeraya, Moluddekaayi, Birusani, Misupaali, Biguvayi, Lekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja b'abantu ba Isiraeri: abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri (2,172). Abaana ba Sefatiya, bisatu mu nsanvu mu babiri (372). Abaana ba Ala, lusanvu mu nsanvu mu bataano (775). Abaana ba Pakasumowaabu, ab'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812). Abaana ba Eramu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254). Abaana ba Zattu, lwenda mu ana mu bataano (945). Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga (760). Abaana ba Bani, lukaaga mu ana mu babiri (642). Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu (623). Abaana ba Azugaadi, lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222). Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666). Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu ataano mu mukaaga (2,056). Abaana ba Adini, bina mu ataano mu bana (454). Abaana ba Ateri era ayitibwa Keezeekiya, kyenda mu munaana (98). Abaana ba Bezayi, bisatu mu abiri mu basatu (323). Abaana ba Yola, kikumi mu kkumi na babiri (112). Abaana ba Kasumu, bibiri mu abiri mu basatu (223). Abaana ba Gibbali, kyenda mu bataano (95). Abaana ba Besirekemu, kikumi mu abiri mu basatu (123). Abasajja b'e Netofa, ataano mu mukaaga (56). Abasajja b'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana (128). Abaana ba Azumavesi, ana mu babiri (42). Abaana ba Kiriaswalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu (743). Abaana ba Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu (621). Abasajja b'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri (122). Abasajja b'e Beseri ne Ayi, bibiri mu abiri mu basatu (223). Abaana ba Nebo, ataano mu babiri (52). Abaana ba Magubisi, kikumi mu ataano mu mukaaga (156). Abaana ba Eramu omulala, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254). Abaana ba Kalimu, bisatu mu abiri (320). Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano (725). Abaana b'e Yeriko, bisatu mu ana mu bataano (345). Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lukaaga mu asatu (3,630). Luno lwe lukalala lwa bakabona abaava mu buwanganguse: abaana ba Yedaya, ab'omu nnyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu (973). Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri (1,052). Abaana ba Pasukuli, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247). Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi na musanvu (1,017). Abaleevi abaava mu buwanganguse be bano: abaana ba Yesuwa ne Kadumyeri, nga basibuka mu Kodaviya, nsanvu mu bana (74). Abayimbi abaana ba Asafu, kikumi mu abiri mu munaana (128). Abaana b'abaggazi be bano: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumooni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda (139). Abaana b'abaweereza b'omu Yeekaalu be bano: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi: abaana ba Kerosi, abaana ba Siyaka, abaana ba Padoni, abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Akkubu; abaana ba Kagabu, abaana ba Samulaayi, abaana ba Kanani; abaana ba Gidderi, abaana ba Gakali, abaana ba Leyaya; abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda, abaana ba Gazzamu; abaana ba Uzza, abaana ba Paseya, abaana ba Besayi; abaana ba Asuna, abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefisimu; abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli; abaana ba Bazulusi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa; abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema; abaana ba Neziya, abaana ba Katifa. Abaana b'abaddu ba Sulemaani be bano: abaana ba Sotayi, abaana ba Kassoferesi, abaana ba Peruda; abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi; abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Ami. Abaana b'abaweereza b'omu Yeekaalu n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali bisatu mu kyenda mu babiri (392). Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddani n'e Immeri, naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe oba obuzaale bwabwe oba okulaga nti Baisiraeri: abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya n'abaana ba Nekoda, bonna awamu baali lukaaga mu ataano mu babiri (652). Ne ku baana ba bakabona; abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi n'abaana ba Baluzirayi. Baluzirayi oyo yawasa omukazi ku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa ng'erinnya lyabwe bwe lyali. Abo ne baanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne batalabika, kyebaava bababoola ne babagoba mu bwakabona. Omukulu waabwe n'abagamba balemenga okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa lwe walibaawo kabona ayinza okwebuuza ng'akozesa Ulimu ne Sumimu. Ekibiina kyonna okugatta kyali, emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360), nga tobaliddeeko baddu baabwe n'abazaana baabwe abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337), era baalina abayimbi abasajja n'abakazi bibiri (200). Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu zaabwe zaali bibiri mu ana mu ttaano (245), eŋŋamira zaabwe zaali bina mu asatu mu ttaano (435), n'endogoyi zaabwe zaali kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). Awo abamu ku bakulu be nnyumba za bakitaabwe bwe bajja mu nnyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi ne bawaayo ku bwabwe olw'okuyamba okuddamu okuzimba ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo; ne bawaayo nga bwe baasobola, ebinaakola omulimu ogwo. Byonna ebyaweebwayo mu ggwanika byali: Daliki emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000) eza zaabu, ne laateri eza ffeeza enkumi ttaano (5,000), n'ebyambalo bya bakabona kikumi (100). Awo bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu n'abayimbi n'abaggazi n'abaweerezanga mu Yeekaalu ne babeeranga mu bibuga byabwe n'aba Isiraeri abalala bonna ne babeeranga mu bibuga ebyabwe. Awo omwezi ogw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga, abantu ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi ng'omuntu omu. Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki n'ayimirira ne baganda be bakabona, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne baganda be, ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isiraeri okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. Ne basimba ekyoto mu kifo kyakyo; newakubadde nga baali batya abantu ab'omu nsi, ne baweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, buli nkya n'akawungeezi. Ne bakwatanga embaga ey'ensiisira nga bwe kyawandiikibwa, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng'omuwendo gwabyo bwe gwali, ng'ekiragiro bwe kyali, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali. Oluvannyuma ne bawaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'emirembe gyonna, n'ebiweebwayo eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga zonna eza Mukama ezaalagirwa, n'ebya buli muntu eyawaayo ng'ayagadde ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama. Ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu kwe baatandikira okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. Naye emisingi gya Yeekaalu ya Mukama nga teginnaba kussibwawo. Era ne bawa abazimbi n'ababazzi ensimbi; n'eby'okulya n'eby'okunywa n'amafuta ne babiwa ab'e Sidoni n'ab'e Ttuulo, okuggya emivule ku Lebanooni okugireta ku nnyanja e Yopa nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yabalagira. Awo mu mwaka ogwokubiri kasookedde bajja eri ennyumba ya Katonda e Yerusaalemi, mu mwezi ogwokubiri, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne batandika omulimu ne baganda baabwe abalala, ne batandika omulimu ne bakabona n'Abaleevi n'abo abaali bavudde mu busibe obwo ne bajja e Yerusaalemi ne babeegattako. Ne balonda Abaleevi abawezezza emyaka asatu (30) n'okukirawo okulabirira omulimu ogw'okuzimba ennyumba ya Mukama. Awo Yesuwa n'ayimirira ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne batabani ba Yuda, ne beegatta wamu okulabirira abakozi mu nnyumba ya Katonda, ne beegattibwako batabani ba Kenadadi, n'Abaleevi, batabani baabwe ne baganda baabwe. Awo abazimbi bwe bassaawo emisingi gya Yeekaalu ya Mukama, bakabona ne bajja nga bambadde ebyambalo byabwe nga balina amakkondeere, n'Abaleevi batabani ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isiraeri bwe yateekateeka. Ne bayimba nga batendereza nga beebaza Mukama nga boogera nti, “Kubanga mulungi, n'okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna eri Isiraeri.” Abantu bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene nga batendereza Mukama, kubanga emisingi gy'ennyumba ya Mukama gissibbwawo. Naye bangi ku bakabona n'Abaleevi n'abakulu be nnyumba za bakitaabwe, n'abakadde abaalaba ennyumba eyasooka, emisingi gy'ennyumba eno bwe ggyassibwawo mu maaso gaabwe, ne bakaaba amaziga n'eddoboozi ddene; so nga abalala bangi bayogerera waggulu n'essanyu. Abantu n'okuyinza ne batayinza kwawula eddoboozi ery'okwogerera waggulu n'essanyu n'eddoboozi ery'okukaaba kw'abantu, kubanga abantu baayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, oluyoogaano ne luwulirirwa wala. Awo abalabe b'abantu ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng'abaana b'obusibe bazimbira Mukama Katonda wa Isiraeri Yeekaalu; ne balyoka basemberera Zerubbaberi n'abakulu be nnyumba za bakitaabwe ne babagamba nti, “Katuzimbire wamu nammwe, kubanga tusinza Katonda wammwe, era tubadde tuwaayo ssaddaaka gyali okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w'e Bwasuli eyatuleeta wano.” Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti, “Temulina kigambo naffe mu kuzimbira Mukama Katonda waffe ennyumba, naye ffe fekka tulizimbira Mukama Katonda wa Isiraeri nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yatulagira.” Awo abantu ab'omu nsi ne banafuya emikono gy'abantu ba Yuda nga babateganya mu kuzimba, ne bagulirira abawa kabaka amagezi babaziyize, era ne babaziyiza okuzimba mu mirembe gyonna egya Kuulo kabaka w'e Buperusi okutuusa Daliyo lwe yafuuka kabaka w'e Buperusi. Ne ku mirembe gya Akaswero nga kyajje afuge obwakabaka, ne bawandiika okuloopa abaali mu Yuda ne Yerusaalemi. Ku mirembe gya Alutagizerugizi; Bisulamu, Misuledasi, Tabeeri ne bannaabwe abalala ne bawandiikira Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi. Ebbaluwa yawandiikibwa mu nnukuta ez'e Kisuuli, ne mu lulimi Olusuuli. Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiika ebbaluwa eri Alutagizerugizi kabaka okuloopa Yerusaalemi bwe bati, awo Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abalamuzi, abafuzi, n'abakungu; n'Abadinayi, n'Abafalasasuki, n'Abataluperi, n'Abafalusi, n'Abalukevi, n'Abababulooni, n'Abasusanuki, n'Abadekayi, n'Abaweramu, n'amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow'ekitiibwa ge yawaŋŋangusa n'abasenza mu bibuga by'e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga. Ebbaluwa eno eggiddwa mu bbaluwa gye baaweereza Alutagizerugizi kabaka, “Ya kabaka Alutagizerugizi; Abaddu bo abasajja abali emitala w'omugga bakulamusizza. Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy'oli batuuse gyetuli era bagenze e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi. Kabaka nno ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, newakubadde empooza, kale ekyo kijja kukendeeza enfuna ya kabaka. Kale kubanga tulya omunnyo ogw'omu lubiri, era tetuyinza kulaba kabaka ng'anyoomebwa, kyetwava tutuma ne tukutegeeza; banoonye mu kitabo eky'okujjukiza ekya bajjajjaabo, ojja kuzuula mu biwandiiko era otegeere ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era ng'okuva edda n'edda kitawaanya nnyo bakabaka n'abafuzi n'abamasaza era nga baajeemyanga abantu; ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa. Tutegeeza kabaka, nti ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, oliba tokyasobola kufuga kitundu kino ekiri emitala w'omugga.” Awo kabaka n'abaddamu nti, “Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga, mbalamusizza. Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera. Ne nteeka etteeka, ne banoonya, era balabye ng'ekibuga ekyo okuva mu biro eby'edda kyasaliranga bakabaka enkwe, n'obujeemu n'ekyejo byakolerwanga omwo. Era waabangawo bakabaka ab'amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w'omugga, era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza. Muteeke nno etteeka abasajja bano balekere awo okuzimba ekibuga ekyo okutuusa lwe nditeeka etteeka eddala. Era mwekuume muleme okutenguwa, kino mukikole mangu, akabi kandikulidde ki okufiiriza kabaka?” Awo ebbaluwa eyaddibwamu eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n'amaanyi n'amawaggali okuzimba. Awo omulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi ne gulekebwayo okutuusa omwaka ogwokubiri ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka w'e Buperusi. Awo bannabbi, Kaggayi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo, ne boogera ebya Katonda eri Abayudaaya abaali mu Yuda ne Yerusaalemi; mu linnya lya Katonda wa Isiraeri mwe baayogerera. Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne basituka ne batandika okuzimba ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi; era wamu nabo waaliwo ne bannabbi ba Katonda abalala nga babayambako. Mu biro ebyo ne wajja gye bali Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne babagamba nti, “Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?” Era ne bababuuza nti, “Abasajja abakola ennyumba eno amannya gaabwe be b'ani?” Naye amaaso ga Katonda waabwe gaali ku bakadde b'Abayudaaya, ne batabalekesaayo mulimu okutuusa nga ekigambo kituuse eri Daliyo, era nga naye abazeemu mu bbaluwa olw'ekigambo ekyo. Eno ye bbaluwa Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne banne, Abafalusaki, abaali emitala w'omugga, gye baaweereza Daliyo kabaka; ebbaluwa yawandiikibwa nti, “Eri kabaka Daliyo emirembe gibeere naawe. Ayi Kabaka tukutegeeza nti twagenda mu ssaza lya Yuda mu nnyumba ya Katonda omukulu ne tusanga nga ezimbibwa n'amayinja amanene, era emiti ngagiteekebwa mu bisenge, n'omulimu guno gukolebwa nga gweyongera n'okunyikira mu mikono gyabwe. Awo ne tubuuza abakadde abo nti, ‘Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?’ Era ne tubabuuza n'amannya gaabwe, tulyoke tukutegeeze amannya g'abasajja ababakulira. Kale ne baddamu nti, ‘Tuli baddu ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba ennyumba eyazimbibwa edda era n'emalirizibwa kabaka wa Isiraeri omukulu emyaka mingi egiyise.’ Naye oluvannyuma bajjajjaffe bwe baali basunguwazizza Katonda w'eggulu, n'abagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni Omukaludaaya, eyazikiriza ennyumba eno n'atwala abantu e Babbulooni. Naye mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Babbulooni, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka okuzimba ennyumba eno eya Katonda. Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadduneeza bye yaggya mu Yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n'abitwala mu ssabo ery'e Babbulooni, ebyo Kuulo kabaka n'abiggya mu ssabo ery'e Babbulooni, n'abikwasa omuntu erinnya lye Sesubazzali gwe yali afudde owessaza;” n'amugamba nti, “Twala ebintu bino, ogende obiteeke mu Yeekaalu eri mu Yerusaalemi, ennyumba ya Katonda ezimbibwa mu kifo mwe yali.” “Awo Sesubazzali oyo n'ajja n'assaawo emisingi gy'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi; kale okuva ku biro ebyo n'okutuusa kaakati ekyazimbibwa era tenaggwa. Kale nno oba nga kabaka asiima banoonye mu ggwanika ly'ebiwandiiko bya kabaka eriri eyo e Babbulooni, balabe oba nga Kuulo kabaka teyateeka teeka ery'okuddamu okuzimba ennyumba eno eya Katonda e Yerusaalemi, era tusaba kabaka atutumire atutegeeze bw'anaasiima mu kigambo kino.” Awo Daliyo kabaka n'alyoka ateeka etteeka, n'alagira ne banoonya mu nnyumba eterekerwamu ebiwandiiko ebitongole e Babbulooni. Ne basanga mu lubiri oluli mu kibuga e Yakumesa mu ssaza ery'Obumeedi omuzingo, ogwawandiikibwamu bwe gutyo okuba ekijjukizo, nti, “Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka; olw'ennyumba ya Katonda eri e Yerusaalemi, ennyumba ezimbibwe, ekifo mwe baweerayo ssaddaaka, n'emisingi gyayo gissibwewo ginywezebwe; obugulumivu bwayo emikono nkaaga (60), n'obugazi bwayo emikono nkaaga (60), n'embu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu olw'emiti emiggya; era eggwanika ly'obwakabaka lye linasasulira omulimu gwonna. Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza bye yaggya mu Yeekaalu eri e Yerusaalemi, n'abireeta e Babbulooni, bizzibweyo bireetebwe nate mu Yeekaalu eri e Yerusaalemi, kinnakimu mu kifo kyakyo, era olibiteeka mu nnyumba ya Katonda.” “Kale nno, Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannammwe Abafalusaki abali emitala w'omugga, omulimu gw'okuzimba muguveeko; muleke omulimu ogw'omu nnyumba eno eya Katonda; muleke owessaza ow'omu Bayudaaya n'abakadde b'Abayudaaya bazimbe ennyumba eno eya Katonda mu kifo kyayo. Era nate nteeka etteeka kye muba mukolera abakadde bano ab'Abayudaaya olw'okuzimba ennyumba ya Katonda eno; baggye ku bintu bya kabaka, ku musolo ogw'emitala w'omugga, abasajja abo basasulwenga mangu ate mu bujjuvu. N'ebyo bye baneetaaganga, ente ento era n'endiga ennume n'abaana b'endiga okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w'eggulu, eŋŋaano, omunnyo, omwenge, n'amafuta, ng'ekigambo bwe kinaabanga ekya bakabona abali e Yerusaalemi, bibaweebwenga buli lunaku obutayosa, balyoke bawengayo ssaddaaka ez'evvumbe eddungi eri Katonda w'eggulu, era basabire obulamu bwa kabaka n'obwa batabani be. Era nteese etteeka buli anaawaanyisanga ekigambo kino, omuti guggibwenga mu nnyumba ye, era asitulibwenga asibibwenga okwo; n'ennyumba ye efuulibwenga olubungo olw'ekyo. Era Katonda eyateekawo erinnya lye okubeeranga eyo, aggyengako bakabaka bonna n'amawanga abanaagololanga emikono gyabwe okuwaanyisa ekyo, ne bazikiriza ennyumba ya Katonda eno eri e Yerusaalemi. Nze Daliyo nteese etteeka; likolebwe n'obwegendereza bwonna.” Awo Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannaabwe, ne bakolera ddala n'obwegendereza bwonna nga kabaka Daliyo bwe yalagira. Awo abakadde b'Abayudaaya ne bazimba ne balaba omukisa olw'ebigambo bya Katonda ebya yogerwa Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo. Ne bazimba ne bagimala ng'ekiragiro bwe kyali ekya Katonda wa Isiraeri, era n'ekiragiro kya Kuulo ne Daliyo ne Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi. Awo ennyumba eno n'emalirwa ku lunaku olwokusatu olw'omwezi Adali, ogw'omu mwaka ogw'omukaaga ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka. Awo abaana ba Isiraeri, bakabona n'Abaleevi, n'abaana b'obusibe abalala, ne bakwata n'essanyu embaga ey'okutukuza ennyumba eno eya Katonda. Ne baweerayo mu kutukuza ennyumba eno eya Katonda ente kikumi (100), endiga ennume bibiri (200), abaana n'endiga ento bina (400). Ne bawaayo ekiweebwayo olw'ekibi ekya Isiraeri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri (12) ng'omuwendo bwe gwali ogw'ebika bya Isiraeri. Ne bassaawo bakabona nga bwe baagerekebwa, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, baweerezenga Katonda mu Yeekaalu e Yerusaalemi; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Awo abaana b'obusibe ne bakwatira Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwolubereberye. Kubanga bakabona n'Abaleevi baali beerongoosezza wamu; bonna baali balongoofu. Abaleevi ne batta omwana gw'endiga olw'Okuyitako ku lw'abaana bonna ab'obusibe ne baganda baabwe bakabona nabo bennyini. Awo abaana ba Isiraeri abaali bakomyewo okuva mu busibe n'abo bonna abaali beeyawudde gyebali okuva mu bugwagwa bwa bannamawanga ab'omu nsi okunoonya Mukama, Katonda wa Isiraeri, ne balya ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa n'essanyu okumala ennaku musanvu (7), kubanga Mukama yali abasanyusizza, era yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Bwasuli gyebali, n'abayamba ku mulimu gw'okuzimba ennyumba ya Katonda, Katonda wa Isiraeri. Awo oluvannyuma lw'ebyo ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi, Ezera mutabani wa Seraya, Seraya mutabani wa Azaliya, Azaliya mutabani wa Kirukiya, Kirukiya mutabani wa Sallumu, Sallumu mutabani wa Zadoki, Zadoki mutabani wa Akitubu, Akitubu mutabani wa Amaliya, Amaliya mutabani wa Azaliya, Azaliya mutabani wa Merayoosi, Merayoosi mutabani wa Zerakiya, Zerakiya mutabani wa Uzzi, Uzzi mutabani wa Bukki, Bbukki mutabani wa Abisuwa, Abisuwa mutabani wa Finekaasi, Finekaasi mutabani wa Ereyazaali, Ereyazaali mutabani wa Alooni kabona asinga obukulu. Ezera oyo n'ava e Babbulooni n'agenda e Yerusaalemi; era yali muwandiisi nga amanyi nnyo eby'omu mateeka, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawa Musa. Kabaka nawa Ezera byonna bye yasaba, kubanga Mukama Katonda yali wamu naye. Awo abamu ku baana ba Isiraeri ne bambuka, ne ku bakabona n'Abaleevi n'abayimbi n'abaggazi n'abaweereza b'omu Yeekaalu, ne bajja e Yerusaalemi mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Kabaka Alutagizerugizi. Ezera najja e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okutaano ogw'omu mwaka ogw'omusanvu ogwa kabaka Alutagizerugizi. Yava e Babbulooni ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwolubereberye Katonda n'amuyamba n'atuuka e Yerusaalemi, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'okutaano. Kubanga Ezera yali atadde omutima gwe kukuyiga okusoma amateeka ga Mukama n'okugakolanga n'okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n'emisango. Eno ye bbaluwa eyaggibwa mu bbaluwa Kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona era omukugu mu bigambo by'amateeka n'ebiragiro, Mukama bye yawa, “Nze Alutagizerugizi kabaka wa bakabaka nkuwandiikidde ggwe Ezera kabona, omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu. Nteeka etteeka nti bonna ab'oku bantu ba Isiraeri ne bakabona baabwe n'Abaleevi mu bwakabaka bwange abaagala ku bwabwe okugenda e Yerusaalemi bayinza, okugenda naawe. Kubanga otumiddwa kabaka n'abateesa naye omusanvu (7) okubuuza ebikwata ku Yuda ne Yerusaalemi, ng'amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo. Era n'okutwala ffeeza ne zaabu kabaka n'abateesa naye gye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, mu kifo kye ky'abeeramu ekiri mu Yerusaalemi, ne ffeeza yonna ne zaabu gy'olisanga mu ssaza lyonna ery'e Babbulooni, wamu n'ekiweebwayo ku bwabwe eky'abantu n'ekya bakabona, kye bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi. Ensimbi ezo, ojja kuzikozesa n'obwegendereza okugula ebintu bino: ente, endiga ennume, endiga ento, n'ebiweebwayo byako eby'obutta, n'ebiweebwayo byako eby'okunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky'omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi. Era kyonna kyonna kye mulisiima okukozesa effeeza ne zaabu ekifikkawo, ggwe ne baganda bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wammwe bw'ayagala. N'ebintu by'oweebwa olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda wo, obiwangayo mu maaso ga Katonda w'e Yerusaalemi. Era byonna ennyumba ya Katonda wo by'eryetaaga okusukkirizaawo, ebirikugwanira okuwaayo, obiwangayo ng'obiggya mu nnyumba y'eggwanika lya kabaka. Nange nze kabaka Alutagizerugizi, nteeka etteeka eri abawanika bonna abali emitala w'omugga nti, Ezera kabona omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu buli ky'alibasalira, kikolebwenga n'obwegendereza bwonna. Bamuwe okutuusa talanta eza ffeeza kikumi (100), n'ebigero by'eŋŋaano kikumi (100), n'ebita by'omwenge kikumi (100), n'ebita by'amafuta kikumi (100). Era bamuwe n'omunnyo gwonna gwe yeetaaga. Buli ekinaalagirwanga Katonda w'eggulu kikolerwenga ddala olw'ennyumba ya Katonda w'eggulu; kubanga obusungu bwandibeereddewo ki eri obwakabaka bwa kabaka ne batabani be? Era tubategeeza nti temuggyanga misolo wadde empooza ku bakabona n'Abaleevi, abayimbi, abaggazi, abakuumi, oba abaddu abalala bonna ab'ennyumba ya Katonda. Naawe, Ezera, ng'amagezi ga Katonda wo bwe gali agali mu mukono gwo, londa abaami n'abalamuzi balamulenga abantu bonna abali emitala w'omugga, bonna abamanyi amateeka ga Katonda wo; n'oyo atagamanyi mumuyigirizenga. Era buli atakkirizenga kukwata mateeka ga Katonda wo, n'amateeka ga kabaka, omusango bagukomekerezenga ku ye n'okunyikira kwonna, oba gwa kuttibwa, oba gwa kugobebwa, oba gwa kunyagibwako ebibye, oba gwa kusibibwa.” Mukama yeebazibwe Katonda wa bajjajjaffe, eyateeka ekigambo ekyenkanidde awo mu mutima gwa kabaka, okuyonja ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi; era eyannyongerako okusaasirwa mu maaso ga kabaka n'abamuwa amagezi, era n'abakungu be ab'amaanyi. Ne mpeebwa amaanyi olw'omukono gwa Mukama Katonda wange, ogwali ku nze, ne nkuŋŋaanya mu Isiraeri abakulu okugenda nange. Bano be bakulu be nnyumba za bakitaabwe, era buno bwe buzaale bw'abo abaava nange e Babbulooni ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka. Okuva ku batabani ba Finekaasi, Gerusomu, okuva ku batabani ba Isamali, Danyeri, okuva ku batabani ba Dawudi, Kattusi. Okuva ku batabani ba Sekaniya; okuva ku batabani ba Palosi, Zekkaliya; era wamu naye ne wabalibwa abasajja ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, kikumi mu ataano (150). Okuva ku batabani ba Pakasumowaabu, Erwenayi mutabani wa Zerakiya; era wamu naye ne abasajja bibiri (200). Okuva ku batabani ba Sekaniya, mutabani wa Yakaziyeeri; era wamu naye abasajja bisatu (300). Okuva ku batabani ba Adini, Ebedi mutabani wa Yonasaani; era wamu naye abasajja ataano (50). Okuva ku batabani ba Eramu, Yesaya mutabani wa Asaliya; era wamu naye abasajja nsanvu (70). Okuva ku batabani ba Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayiri; era wamu naye abasajja kinaana (80). Okuva ku batabani ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri; era wamu naye abasajja bibiri mu kkumi na munaana (218). Okuva ku batabani ba Seromisi, mutabani wa Yosifiya; era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160). Okuva ku batabani ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi; era wamu naye abasajja abiri mu munaana (28). Okuva ku batabani ba Azugadi, Yokanani mutabani wa Kakkatani; era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110). Okuva ku batabani ba Adonikamu abajja oluvannyuma; amannya gaabwe ge gano, Erifereti, Yeweri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60). Okuva ku batabani ba Biguvayi, Usayi ne Zabbudi; era wamu nabo abasajja nsanvu (70). Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogugenda e Yakava; ne tusiisira eyo ne tumalayo ennaku ssatu. Ne nneetegereza abantu ne bakabona, ne ssirabayo n'omu ku batabani ba Leevi. Awo ne ntumya Eryeza, Alyeri, Semaaya, ne Erunasani, ne Yalibu, Erunasani, Nasani, Zekkaliya, ne Mesullamu, abasajja abakulu, era ne Yoyalibu ne Erunasani, abasajja abamanyi ensonga. Ne mbatuma okugenda eri Iddo, omukulu w'ekifo Kasifiya; ne mbabuulira bye baba bagamba Iddo ne baganda be abaweereza b'omu Yeekaalu abaali eyo e Kasifiya, batuweereze abantu ab'okuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe. Awo olw'omukono omulungi ogwa Katonda waffe ogwali ku ffe ne batuleetera omusajja ow'amagezi, ow'oku batabani Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri; ne Serebiya ne batabani be ne baganda be, kkumi na munaana (18) ne Kasabiya, era wamu naye Yesaya ow'oku batabani ba Merali, baganda be ne batabani baabwe, abiri (20). Okwo kweyongerako abaweereza ab'omu Yeekaalu bibiri mu abiri (220). Kabaka Dawudi n'abakungu be baawaayo okuyamba Abaleevi. Abo bonna ne baatulwa amannya gaabwe. Awo ne nnangirira okusiiba eyo, ku mugga Akava, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, okunoonya gy'ali ekkubo eggolokofu, eryaffe, era ery'abaana baffe abato, era ery'ebintu byaffe byonna. Kubanga ensonyi zankwata okusaba kabaka ekitongole ky'abaserikale n'abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe mu kkubo; kubanga twali twogedde ne kabaka nti, “Omukono gwa Katonda waffe guba ku abo bonna abamunoonya olw'obulungi; naye obuyinza bwe n'obusungu bwe buli eri abo bonna abamuleka.” Awo ne tusiiba ne tusaba Katonda ekigambo kino ne tumwegayirira era n'awulira kye twamusaba. Awo ne njawula kkumi na babiri (12), ku bakulu ba bakabona, Serebiya, Kasabiya, ne baganda baabwe kkumi (10). Abo ne mbapimira effeeza n'ezaabu, n'ebintu, kye kiweebwayo olw'ennyumba ya Katonda waffe, kabaka n'abateesa naye n'abakungu be era ne Isiraeri yenna abaali eyo bye baawaayo. Nabapimira ne mbakwasa talanta eza ffeeza lukaaga mu ataano (650), n'ebintu ebya ffeeza talanta kikumi (100), zaabu talanta kikumi (100), n'ebibya ebya zaabu abiri (20), ebya daliki lukumi (1,000), n'ebintu bibiri eby'ebikomo ebirungi ebizigule, eby'omuwendo nga zaabu. Ne mbagamba nti Muli batukuvu eri Mukama, n'ebintu bitukuvu; ne ffeeza ne zaabu kye kiweebwayo ku bwammwe eri Mukama wa bajjajjammwe. Mutunule mubikuume okutuusa lwe mulibipima mu maaso g'abakulu ba bakabona n'Abaleevi n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri mu Yerusaalemi mu bisenge eby'omu nnyumba ya Mukama. Awo bakabona n'Abaleevi ne batoola ffeeza ne zaabu n'ebintu ng'obuzito bwabyo bwe bwali okubireeta e Yerusaalemi mu nnyumba ya Katonda waffe. Awo ne tuvaayo ku mugga Akava ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogwolubereberye okugenda e Yerusaalemi; n'omukono gwa Katonda waffe gwali ku ffe, n'atuwonya mu mukono gw'omulabe n'omuteezi mu kkubo. Ne tujja e Yerusaalemi ne tumalayo ennaku ssatu (3). Awo ku lunaku olwokuna ne bapimira ffeeza ne zaabu n'ebintu mu nnyumba ya Katonda waffe, era ne tubikwasa mu mukono gwa Meremoosi mutabani wa Uliya kabona. Era awamu naye waaliwo Ereyazaali mutabani wa Finekaasi; era awamu nabo waaliwo Abaleevi: Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi. Ebintu byonna ng'omuwendo gwabyo era ng'obuzito bwabyo bwe byali; byabalibwa ne bipimibwa era byonna ne biwandiikibwa mu kiseera ekyo. Abaana b'obusibe abaakomawo ewaabwe nga bava mu buwaŋŋanguse ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isiraeri, ente kkumi na bbiri (12) olwa Isiraeri yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga (96), endiga ento nsanvu mu musanvu (77), embuzi ennume kkumi na bbiri (12) okuba ekiweebwayo olw'ekibi; ezo zonna ne ziba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Ne bawa abaamasaza ebiragiro bya kabaka n'abo abafuga emitala w'omugga; abo ne bayamba abantu era n'ennyumba ya Katonda. Awo ebigambo ebyo bwe byaggwa okukolebwa, abakulu ne bansemberera nga boogera nti, “Abantu ba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde na mawanga ag'omu nsi nga bakola okugoberera emizizo gyabwe, egy'Abakanani, n'Abakiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi, n'Abamoni, n'Abamowaabu, n'Abamisiri, n'Abamoli. Kubanga beewasiriza ku bawala baabwe, ne batabani baabwe babawasiriza abakazi ab'amawanga amalala; bwe kityo ezzadde ettukuvu ne lyetabula n'amawanga ag'omu nsi. Weewaawo, omukono gw'abakulu n'abafuga gwe gusinze okwonoona bwe gutyo.” Awo bwe nnawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula enviiri ez'oku mutwe gwange n'ekirevu kyange, ne ntuula nga nsamaliridde. Awo ne wakuŋŋaanira gye ndi bonna abaakankanira ebigambo Katonda wa Isiraeri bye yayogera olw'okusobya kw'abo ab'obusibe, ne ntuula nga nsamaaliridde ne ntuusa ekitone eky'akawungeezi we kiweerwayo. Awo ekitone eky'akawungeezi bwe kyaweebwayo, ne nsituka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekyambalo kyange n'omunagiro gwange nga biyulise; ne nfukamira ku maviivi gange ne nnyanjuluza engalo zange eri Mukama Katonda wange; ne njogera nti, “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, amaaso gange ne gamyuka okuyimusa amaaso gange gy'oli, Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe bweyongedde ne busukka emitwe gyaffe, n'omusango gwaffe gugulumidde okutuuka mu ggulu. Okuva ku nnaku za bajjajjaffe n'okutuusa leero tuzizza omusango munene nnyo; era olw'obutali butuukirivu bwaffe kyetwava tugabulwa, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mukono gwa bakabaka b'ensi abalala, era neri ekitala, ne tutwalibwa nga tuli basibe, ne tunyagibwa era n'amaaso gaffe okukwatibwa ensonyi nga leero. Ne kaakano akaseera katono ekisa kiragiddwa ekiva eri Mukama Katonda waffe, okutulekera ekitundu eky'okuwona n'okutuwa enninga mu kifo ekitukuvu, Katonda waffe ayakire amaaso gaffe n'okutuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe. Kubanga tuli basibe; naye Katonda waffe tatwabulidde mu buddu bwaffe, naye atwongeddeko okusaasirwa ne twagalibwa mu maaso ga bakabaka b'e Buperusi, ne batuwa okuweeraweera, n'okutukirizza okuzimba ennyumba ya Katonda waffe n'okuddaabiriza ebyayo ebyagwa n'okutuwa bbugwe mu Yuda ne mu Yerusaalemi. Kale nno, ayi Katonda waffe, tunaayogera ki oluvannyuma lwa bino? Kubanga twaleka ebiragiro byo, bye walagira ng'oyita mu baddu bo bannabbi ng'oyogera nti, ‘Ensi gye muyingiramu okugirya si nnongoofu olw'obutali bulongoofu bw'amawanga ag'omu nsi, olw'emizizo gyabwe, baagijjuzizza obugwagwa bwabwe eruuyi n'eruuyi. Kale nno temuwanga bawala bammwe batabani baabwe, so temuwasizanga batabani bammwe bawala baabwe, so temunoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe emirembe gyonna, mulyoke mube n'amaanyi mulye ebirungi ebiri mu nsi, mugirekere abaana bammwe okuba obusika bwabwe emirembe gyonna.’ Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, kubanga ggwe, Katonda waffe, watubonerezaako katono so si ng'obutali butuukirivu bwaffe bwe bwatusaanyiza, n'otuwa ekitundu ekyenkana awo. Kale tuyinza tutya okuddamu okusobya amateeka go ne tuba bakoddomi b'amawanga agakola eby'emizizo? Tewanditusunguwalidde okutuusa lwe wandituzikirizza, obutabaawo kitundu ekifisseewo newakubadde ow'okuwona? Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, ggwe mutuukirivu; kubanga ffe tusigadde ekitundu ekifisseewo ekiwonye nga bwe kiri leero. Laba, tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango; kubanga tewali ayinza okuyimirira mu maaso go olw'omusango ogwo.” Awo Ezera bwe yali ng'asaba era ng'ayatula, ng'akaaba amaziga era ng'avuunamye mu maaso g'ennyumba ya Katonda, ne wakuŋŋaanira waali okuva mu Isiraeri ekibiina ekinene ennyo eky'abasajja n'abakazi n'abaana abato, kubanga abantu baakaaba nnyo nnyini amaziga. Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri omu ku batabani ba Eramu, n'addamu n'agamba Ezera nti, “Twonoonye Katonda waffe, ne tuwasa abakazi bannamawanga ab'oku mawanga ag'omu nsi, naye kaakano essuubi weeriri eri Isiraeri olw'ekyo. Kale nno tulagaane endagaano ne Katonda waffe okugoba abakazi bonna n'abo be baazaala, ng'okuteesa bwe kuli okwa mukama wange n'abo abakankanira ekiragiro kya Katonda waffe; era kikolebwe ng'amateeka ge bwe gali. Situka, kubanga ogwo mulimu gwo, naffe tuli wamu naawe; guma omwoyo okikole.” Awo Ezera n'alyoka asituka, n'alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Isiraeri yenna, nga banaakola ng'ekigambo kino bwe kiri. Awo ne balayira. Awo Ezera n'alyoka asituka okuva mu maaso g'ennyumba ya Katonda, n'ayingira mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, awo bwe yatuukayo, n'atalya mmere so teyanywa mazzi, kubanga yanakuwala olw'okusobya kw'abo ab'obusibe. Ne balangirira okubunya Yuda ne Yerusaalemi abaana bonna ab'obusibe bakuŋŋaanire e Yerusaalemi; era buli atalijja mu bbanga ery'ennaku ssatu, ng'okuteesa kw'abakulu n'abakadde bwe kwali, afiirwe ebintu bye byonna, naye yennyini ayawulibwe mu kibiina eky'obusibe. Awo abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu bbanga ery'ennaku essatu; gwali mwezi gwa mwenda, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, abantu bonna ne batuula mu kifo ekigazi mu maaso g'ennyumba ya Katonda, nga bakankana olw'ensonga eyo n'olw'enkuba ennyingi. Awo Ezera kabona n'ayimirira n'abagamba nti, “Mwasobya ne muwasa abakazi bannamawanga okwongera ku Isiraeri omusango. Kale nno mwatulire Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by'asiima; mweyawule n'amawanga ag'omu nsi n'abakazi bannamawanga.” Awo ekibiina kyonna ne baddamu ne boogera n'eddoboozi ddene nti, “Nga bw'oyogedde, ebigambo byaffe, bwe kityo bwe kitugwanidde okukola. Naye abantu tuli bangi, era bye biro eby'enkuba ennyingi, so tetuyinza kuyimirira bweru, so guno omulimu si gwa lunaku lumu oba bbiri, kubanga twasobya nnyo mu kigambo ekyo. Kale abakulu baffe beeyimirire ekibiina kyonna, n'abo bonna abali mu bibuga byaffe abaawasa abakazi bannamawanga bajjire mu biseera ebiteekebwawo, era wamu nabo abakadde ba buli kibuga, n'abalamuzi baakyo, okutuusa Katonda waffe lw'alikyusa ekiruyi kye ekikambwe ne kituvaako, era okutuusa ekigambo kino lwe kinaamalibwa.” Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva bokka ne bayimirira okugaana ekigambo kino, era Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi ne babawagira. Awo abaana b'obusibe ne bakola bwe batyo. Awo Ezera kabona n'alonda abasajja, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era n'awandiika amannya gaabwe; ne batuula ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi, okwetegereza ekigambo ekyo. Ne bamala ebigambo by'abasajja bonna abaali bawasizza abakazi bannamawanga ng'olunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwolubereberye terunayita. Ne mu batabani ba bakabona ne musangibwamu abaali bawasizza abakazi bannamawanga; ku batabani ba Yesuwa, mutabani wa Yozadaki ne baganda be, Maaseya, Eryeza, Yalibu ne Gedaliya. Abo ne basuubiza okugoba bakazi baabwe; era kubanga omusango gubasinze ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo olw'omusango gwabwe. Ne ku batabani ba Immeri; Kanani ne Zebadiya. Ne ku batabani ba Kalimu; Maaseya, Eriya, Semaaya, Yekyeri, ne Uzziya. Ne ku batabani ba Pasukuli; Eriwenayi, Maaseya, Isimaeri, Nesaneeri, Yozabadi, ne Erasa. Ne ku Baleevi; Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya era ayitibwa Kerita, Pesakiya, Yuda, ne Eryeza. Ne ku bayimbi; Eriyasibu: ne ku baggazi; Sallumu, Teremu ne Uli. Ne ku baana ba Isiraeri abalala; ku batabani ba Palosi; Lamiya, Izziya, Malukiya, Miyamini, Ereyazaali, Malukiya, ne Benaya. Ne ku batabani ba Eramu; Mattaniya, Zekkaliya, Yekyeri, Abudi, Yeremoosi, ne Eriya Ne ku batabani ba Zattu; Eriwenayi, Eriyasibu, Mattaniya, Yeremoosi, Zabadi, ne Aziza. Ne ku batabani ba Bebayi; Yekokanani, Kananiya, Zabbayi, Asulaayi. Ne ku batabani ba Bani; Mesullamu, Malluki, ne Adaya, Yasubu, Seyaali ne Yeremoosi. Ne ku batabani ba Pakasumowaabu; Aduna, Kerali, Benaya, Maaseya, Mattaniya, Bezaleeri, Binnuyi, ne Manase. Ne ku batabani ba Kalimu; Eryeza, Isusiya, Malukiya, Semaaya, Simyoni; Benyamini, Malluki ne Semaliya. Ku batabani ba Kasumu; Mattenayi, Mattata, Zabadi, Erifereti, Yeremayi, Manase ne Simeeyi. Ku batabani ba Baani; Maadayi, Amulaamu, ne Uweri; Benaya, Bedeya, Keruki; Vaniya, Meremoosi, Eriyasibu; Mattaniya, Mattenayi, ne Yaasu; Baani, Binnuyi ne Simeeyi; Seremiya, Nasani ne Adaya; Makunadebayi, Sasayi, Salaayi; Azaleeri Seremiya ne Semaliya; Sallumu, Amaliya, Yusufu. Ku batabani ba Nebo; Yeyeeri, Mattisiya, Zabadi, Zebina, Iddo, Yoweeri ne Benaya. Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, era abamu ku bo baali balina abakazi be baali bazaddemu abaana, bonna ne babagoba n'abaana baabwe. Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya. Awo olwatuuka mu mwezi Kisuleevu mu mwaka ogw'abiri (20), bwe nnali nga ndi mu lubiri oluli mu kibuga ekikulu Susani, Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebifa ku Bayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi. Ne baŋŋamba nti, “Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa; era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.” Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga ne nnakuwalira ennaku eziweerako; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu, ne njogera nti, “Nkwegayiridde, ayi Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye; okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona; weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona. Twakola eby'obukyamu ennyo gy'oli, so tetwakwata biragiro byo, newakubadde amateeka go, newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa. Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng'oyogera nti, ‘Bwe munaasobyanga, nnaabasaasaanyizanga ddala mu mawanga; naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange.’ Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogw'amaanyi. Ayi Mukama, nkwegayiridde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw'omuddu wo n'okusaba kw'abaddu bo abasanyukira okutya erinnya lyo; owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g'omusajja ono.” Era nali musenero wa kabaka. Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwalirangako mu maaso ge. Kabaka n'aŋŋamba nti, “Kiki ekinakuwazizza amaaso go, okulwala nga tolwadde? Kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw'omu mutima.” Awo ne ndyoka ntya nnyo. Ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abe omulamu emirembe gyonna! Kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala ng'ekibuga ekifo eky'amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n'emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro?” Awo kabaka n'aŋŋamba nti, “Weegayirira ki?” Awo ne nsaba Katonda w'eggulu. Ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.” Kabaka n'aŋŋamba, kaddulubaale naye nga atudde naye nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? Era olidda ddi?” Awo kabaka n'asiima okuntuma; ne mmulaga ekiseera. Era nate ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka bw'anaasiima, mpeebwe ebbaluwa ez'okutwalira abaamasaza abali emitala w'omugga, banzikirize bampiseemu okutuuka mu Yuda. Era ne nsaba n'ebbaluwa eri Asafu omukuumi w'ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez'enzigi z'ekigo eky'ennyumba era eza bbugwe w'ekibuga n'ez'ennyumba gye ndisulamu.” Kabaka n'ampa bye nnamusaba, olw'omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze. Awo ne njija eri abaamasaza abaali emitala w'omugga ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Era kabaka yali atumye nange abaami b'eggye n'abeebagala embalaasi. Awo Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni bwe baakiwulira, ne kibanakuwaza nnyo, kubanga omusajja azze okugezaako okuyamba abaana ba Isiraeri. Awo ne njija e Yerusaalemi ne mmalayo ennaku ssatu. Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi, so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagalanga. Ne nvaamu kiro nga nfulumira mu luggi olw'omu kiwonvu, nga nkwata ekkubo ery'oluzzi olw'ogusota n'omulyango ogw'obusa, ne nneetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo gyali gyokeddwa omuliro. Awo ne nneeyongerayo eri omulyango ogw'oluzzi n'ekidiba kya kabaka; naye nga tewali kkubo ensolo gye nneebagadde ly'eneeyitamu. Awo ne nnyambuka kiro awali akagga, ne nneetegereza bbugwe; ne nkyuka ne nnyingira mu mulyango ogw'omu kiwonvu, ne nkomawo bwe ntyo. Abakulu ne batamanya gye nnagenda newakubadde kye nnakola; era nnali sinnababuulira Abayudaaya, newakubadde bakabona, newakubadde abakungu newakubadde abafuga newakubadde abalala bonna abali ab'okukola omulimu. Awo ne mbagamba nti, “Mulaba bwe tuli obubi, Yerusaalemi, bwe kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro. Mujje tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi, tuleme okuba nate ekivume.” Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n'ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti, “Tugolokoke tuzimbe.” Awo ne banyweza emikono gyabwe olw'omulimu ogwo omulungi. Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti, “Kigambo ki kino kye mukola? Mwagala okujeemera kabaka?” Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti, “Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kye tuliva tugolokoka ne tuzimba; naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.” Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu n'asituka wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba omulyango ogw'endiga; ne bagutukuza, era ne basimba enzigi zaagwo; ne batukuza ekisenge okutuukira ddala ku munaala gwe kikumi (100), n'okutuukira ddala ku munaala ogwa Kananeri. Era abasajja ab'e Yeriko be baamuddirira okuzimba, ate Zakkuli mutabani wa Imuli n'abaddirira okuzimba. N'omulyango ogw'ebyennyanja batabani ba Kassena be baaguzimba; ne baguteekamu emyango gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo. Era Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Mesullamu mutabani wa Berekiya muzzukulu wa Mesezaberi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Zadoki mutabani wa Baana ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Abatekowa be baabaddirira okuddaabiriza; naye abakungu baabwe tebassaawo nsingo ku mulimu gwa mukama waabwe. N'omulyango ogw'edda Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya be baaguddaabiriza; baateekamu emyango gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo n'ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo. Era Meratiya Omugibyoni ne Yadoni Omumeronoosi, abasajja ab'e Gibyoni, n'ab'e Mizupa, eky'omu ssaza ly'omukulu w'emitala w'omugga, be baabaddirira okuddaabiriza. Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, abaweesi ba zaabu, be baamuddirira okuddaabiriza. Era Kananiya omukozi w'eby'obuwoowo ye yamuddirira okuddaabiriza, ne banyweza Yerusaalemi, okutuuka ku bbugwe omugazi. Era Lefaya mutabani wa Kuuli omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Yedaya mutabani wa Kalumafu ye yabaddirira okuddaabiriza, eyaddabiriza ekitundu ekitunudde mu ennyumba ye. Era Kattusi mutabani wa Kasabuneya ye yamuddirira okuddaabiriza. Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza byombi, ekitundu ekyaddako, n'omunaala ogw'ebyoto Era Sallumu mutabani wa Kallokesi omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi, ye ne bawala be, ye yamuddirira okuddaabiriza. Kanuni n'abatuuze b'e Zanowa ne baddabiriza omulyango ogw'omu kiwonvu; ne baguzimba ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, era ne baddabiriza n'ekisenge eky'oku bbugwe eky'emikono olukumi (1,000) okutuuka ku mulyango ogw'obusa. Malukiya mutabani wa Lekabu omukulu w'essaza ly'e Besukakkeremu n'addabiriza omulyango gw'obusa; n'aguzimba n'aguteekamu enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo. Salluni mutabani wa Kolukoze omukulu w'essaza ly'e Mizupa n'addabiriza omulyango gw'Oluzzi. Naguzimba n'agubikkako n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, era n'azimba ne bbugwe ow'oku kidiba kya Sera ekiriraanye olusuku lwa kabaka okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi. Nekkemiya mutabani wa Azubuki omufuzi w'ekitundu ky'essaza ly'e Besuzuli ye yamuddirira okuddaabiriza n'atuukira ddala ku kifo ekyolekera amalaalo ga Dawudi n'okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, ne ku nnyumba y'abasajja ab'amaanyi. Abaleevi, Lekumu mutabani wa Baani, be baamuddirira okuddabiriza. Kasabiya omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira ye yamuddirira okuddabiriza ku lw'essaza lye. Baganda baabwe, Bavvayi mutabani wa Kenadadi omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira, be baamuddirira okuddaabiriza. Ne Ezeri mutabani wa Yesuwa omukulu w'e Mizupa ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera awalinnyirwa mu ggwanika ery'eby'okulwanyisa ku nsonda ya bbugwe. Baluki mutabani wa Zabbayi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala, ng'anyiikira nnyo, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu. Meremoosi mutabani wa Uliya era muzzukulu wa Kakkozi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala okuva ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba ya Eriyasibu. Ne bakabona, abasajja ab'omu lusenyi, be baamuddirira okuddaabiriza. Benyamini ne Kassubu be baabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe. Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya ye yabaddirira okuddaabiriza ku mabbali g'ennyumba ye. Binnuyi mutabani wa Kenadadi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe. Palali mutabani wa Uzayi ye yaddaabiriza okwolekera bbugwe w'awetera n'omunaala ogw'azimbibwa ku nnyumba ey'engulu eya kabaka eriraanye oluggya olw'abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi ye yamuddirira okuddaabiriza. Era abaweereza b'omu Yeekaalu abaabeeranga mu Oferi ne baddabiriza okutuuka ku kifo ekyolekera omulyango ogw'amazzi ebuvanjuba, ne ku munaala omuwanvu ogwa kizimbibwako. Abatekowa be baamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala ekyolekera omunaala omunene omuwanvu ogwa kizimbibwako n'okutuuka ku bbugwe w'e Oferi. Engulu w'omulyango ogw'embalaasi bakabona we baddaabiriza, buli muntu okwolekera ennyumba ye. Zadoki mutabani wa Immeri ye yabaddirira okuddaabiriza, okwolekera ennyumba ye. Ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba ye yamuddirira okuddaabiriza. Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni omwana ow'omukaaga owa Zalafu be baamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala. Mesullamu mutabani wa Berekiya ye yamuddirira okuddaabiriza okwolekera ekisenge kye. Malukiya omu ku baweesi ba zaabu ye yamuddirira okuddaabiriza okutuusa ku nnyumba ey'Abaweereza b'omu Yeekaalu n'ey'abasuubuzi okwolekera omulyango gwa Kamifukaadi n'okutuusa awalinnyirwa ku nsonda ya bbugwe. Era wakati w'awalinnyirwa ku nsonda n'omulyango ogw'endiga abaweesi ba zaabu n'abasuubuzi we baddaabiriza. Naye olwatuuka Sanubalaati bwe yawulira nga tuzimba bbugwe, n'asunguwala n'abaako ekiruyi kingi n'aduulira Abayudaaya. N'ayogerera mu maaso ga baganda be n'eggye ly'e Samaliya n'agamba nti, “Abayudaaya bano abanafu bakola ki? Baagala okwekomera? Baagala okuwaayo ssaddaaka? Baagala okumalira ku lunaku lumu? Baagala okuzuukiza amayinja okugaggya mu bifunvu eby'ebisasiro, kubanga gookeddwa?” Awo Tobiya Omwamoni yali naye n'ayogera nti, “N'ekyo kye bazimba ekibe bwe kinaalinnyayo kinaasuula bbugwe waabwe ow'amayinja.” Wulira, ayi Katonda waffe; kubanga tunyoomeddwa nnyo, era zza ekivume kyabwe ku mutwe gwabwe bo, obagabule okunyagibwako ebintu byabwe, era batwalibwe mu nsi endala nga basibe So tobikka ku butali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe kireme okusangulibwa mu maaso go; kubanga bakusunguwazizza mu maaso g'abazimbi. Awo ne tuzimba bbugwe; bbugwe yenna n'agattibwa wamu okutuusa lwe yenkanankana obugulumivu, kubanga abantu bassaayo omwoyo eri omulimu. Naye olwatuuka Sanubalaati ne Tobiya n'Abawalabu n'Abamoni n'Abasudodi bwe baawulira ng'omulimu ogw'okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda gweyongera mu maaso, era ng'ebituli bitandise okuzibibwa, kale ne basunguwala nnyo; ne beekobaana bonna wamu okujja okulwana ne Yerusaalemi n'okukisasamaza. Naye ne tusaba Katonda waffe, era ne tussaawo abakuumi okutukuuma emisana n'ekiro baleme okutukola akabi. Naye Yuda n'ayogera nti, “Amaanyi g'abo abeetikka emigugu gakendedde so nga wakyaliwo ebisasiro bingi; n'okuyinza tetukyayinza kuzimba bbugwe.” Abalabe baffe ne bateesa nga boogera nti, “Tebalimanya so tebaliraba, okutuusa lwe tuliyingira mu bo wakati, ne tubatta, ne tubalesaayo omulimu.” Awo olwatuuka Abayudaaya abaabeeranga okumpi nabo, ne bajja, ne batugamba emirundi kkumi nti, “Okuva mu bifo byonna gye babeera bajja kutulumba.” Kye nnava nzisaawo abantu mu njuyi eza wansi ez'omu bbanga eryali emabega wa bbugwe, buli awaali watannaggwa, kyennava nzisaawo abantu ng'enda zaabwe bwe zaali nga balina ebitala byabwe n'amafumu gaabwe n'emitego gyabwe. Ne ntunula ne nsituka ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti, “Temubatya, mujjukire Mukama omukulu ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.” Awo olwatuuka abalabe baffe bwe baawulira ng'olukwe lwabwe tulutegedde, era nga Katonda asse okuteesa kwabwe, ne tulyoka tudda fenna ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe. Awo olwatuuka okuva mu biro ebyo n'okweyongerayo ekitundu ky'abaddu bange ne bakolanga omulimu ogw'okuzimba, n'ekitundu ne bakwatanga amafumu n'engabo n'emitego n'ebizibawo eby'ebyuma. Abakulu ne babanga emabega w'ennyumba yonna eya Yuda. Abo abaazimbanga bbugwe n'abo abeetikkanga emigugu ne beebinikanga, naye nga buli muntu ng'akola omulimu n'omukono gwe gumu, n'ogwokubiri nga gukutte eky'okulwanyisa. Era buli muzimbi, yazimbanga yeesibye ekitala kye mu kiwato. N'oyo eyafuuwanga, ekkondeere n'abeeranga nange. Ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti, “Omulimu munene mugazi, naffe twesudde amabanga ku bbugwe, ng'omu ali wala ne munne. Kale buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly'ekkondeere, mutudduukiririranga eyo; era Katonda waffe ye anaatulwaniriranga.” Awo ne tukolanga omulimu, ekitundu kyabwe ekimu ne bakwatanga amafumu okuva obudde we bwakeereranga okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga. Era mu biro ebyo ne ŋŋamba bwe ntyo abantu nti, “Buli muntu n'omuddu we asulenga mu Yerusaalemi babeerenga bakuumi baffe ekiro, era bakolenga omulimu emisana.” Awo ne tutayambulangamu byambalo byaffe, nze newakubadde baganda bange, newakubadde abaddu bange, newakubadde abasajja abambowa abangobereranga; tetwayambulangamu byambalo byaffe, buli muntu yagendanga emugga ng'akutte eky'okulwanyisa kye. Awo ne wabaawo olukaayano olunene olw'abantu ne bakazi baabwe eri baganda baabwe Abayudaaya. Kubanga waaliwo abaayogera nti, “Ffe, batabani baffe ne bawala baffe, tuli bangi; tufune eŋŋaano tulyenga tube abalamu.” Era ne wabaawo abalala abaayogera nti, “Tusingawo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe olw'enjala, tufunenga eŋŋaano.” Era ne wabaawo abaayogera nti, “Twewola effeeza ey'omusolo gwa kabaka nga tusinzeewo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu.” Naye kaakano omubiri gwaffe guli ng'omubiri gwa baganda baffe, abaana baffe bali ng'abaana baabwe, era, laba, batabani baffe ne bawala baffe tubaleeta mu buddu okuba abaddu, era abamu ku bawala baffe bamaze okuleetebwa mu buddu; so tetuliiko kye tunaakola; kubanga abasajja abalala be balina ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu. Awo ne nsunguwala nnyo bwe nnawulira olukaayano lwabwe n'ebigambo bino. Awo ne ndyoka nteesa nzekka ne nnyomba n'abakungu n'abakulu ne mbagamba nti, “Muweesa buli muntu muganda we amagoba.” Ne mbakuŋŋaanya okukuŋŋaana okunene. Ne mbagamba nti, “Ffe nga bwe twayinza twanunula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga. Kaakano nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, ffe tulyoke tubagule!” Awo ne basirika busirisi ne batabaako kye boogera. Era ne njogera nti, “Ekigambo kye mukola si kirungi. Temwanditambulidde mu kutya Katonda waffe, ne mutatuvumisa bannamawanga abalabe baffe? Era nange bwe ntyo ne baganda bange n'abaddu bange tubadde tuwola effeeza n'eŋŋaano olw'amagoba. Mbeegayiridde, tuleke amagoba ago. Mbeegayiridde, mubaddize leero ennimiro zaabwe n'ensuku zaabwe ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni n'ennyumba zaabwe, era n'ekitundu eky'ekikumi ekya ffeeza, n'eky'eŋŋaano, n'omwenge n'amafuta bye mubadde mubaweesa.” Awo ne boogera nti, “Tunaabizza, so tetulibasalira kintu, bwe tutyo tunaakola nga bw'oyogera.” Awo ne mpita bakabona, ne mbalayiza nga banaakolanga bwe basuubizza. Era ne nkunkumula olugoye olw'omu kifuba kyange ne njogera nti, “Katonda akunkumulire bw'atyo mu nnyumba ye ne mu mulimu gwe buli muntu atatuukiriza kusuubiza kuno; bw'atyo bw'aba akunkumulwa amalibwemu.” Ekibiina kyonna ne boogera nti, “Amiina,” ne batendereza Mukama. Abantu ne bakola nga bwe basuubiza. Era okuva mu biro lwe nnateekebwawo okuba omukulu waabwe mu nsi ya Yuda, okuva ku mwaka ogw'abiri (20) okutuuka ku mwaka ogw'asatu mu ebiri (32) ogwa Alutagizerugizi kabaka, gye myaka ekkumi n'ebiri (12), nze ne baganda bange tetulyanga ku mmere ey'omukulu. Naye abakulu ab'edda abansooka baasoloozanga ku bantu bye baalyanga ne babasaliranga emmere n'omwenge ne bongerako ne sekeri eza ffeeza ana (40) era n'abaddu baabwe baatulugunyanga abantu, naye nze si bwe nnakolanga olw'okutya Katonda. Weewaawo, era nanyiikiranga okukola omulimu ogw'okuzimba bbugwe ono, ne tuteegulira ttaka, n'abaddu bange bonna ne baakuŋŋaanira eyo eri omulimu. Era bulijjo ku mmeeza yange nnaliisanga Abayudaaya n'abakulu babwe, abasajja kikumi mu ataano (150), obutassaako abo abajja gyetuli nga bava mu bannamawanga abatwetoolodde. Era ebyafumbibwanga eby'olunaku olumu byali: ente emu (1) n'endiga ensava mukaaga (6) era n'enkoko zanfumbirwanga, n'omulundi gumu buli nnaku kkumi (10) omwenge ogw'engeri zonna, era naye newakubadde nga byali bwe bityo ssaabasalira mmere gye banditekeddwa okuwa omukulu, kubanga obuddu bwabazitoowerera abantu bano. Ayi Katonda wange, jjukira gye ndi olw'obulungi byonna bye nkoledde abantu. Awo olwatuuka bwe baabuulira Sanubalaati ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n'abalabe baffe abalala nga nzimbye bbugwe, era nga tewakyali bituli bisigaddemu; newakubadde nga mu biro ebyo nali nga sinnassa nzigi mu miryango Awo Sanubalaati ne Gesemu ne bantumira nga boogera nti, “Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak'omu lusenyi lwa Ono.” Naye nga baalowooza okunkola obubi. Ne mbatumira ababaka nga njogera nti, “Nkola omulimu omunene n'okuyinza siyinza kujja gye muli, omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nzijja eyo gye muli?” Ne bantumira bwe batyo emirundi ena; ne mbaddamu bwe ntyo. Awo Sanubalaati n'antumira omuddu we bw'atyo omulundi ogw'okutaano ng'alina mu mukono gwe ebbaluwa eteri nsibe; omwawandiikibwa nti, “Mu mawanga mulimu ebigambo era ne Gasimu atutegeezeza nga ggwe n'Abayudaaya mwagala okujeema; kyova ozimba bbugwe, era oyagala okuba kabaka waabwe, ebigambo ebyo bwe byogera bwe bityo. Era otaddewo ne bannabbi abanaabuulira abantu ebigambo byo e Yerusaalemi nga boogera nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Kale nno kabaka taaleme kubuulirwa bigambo ebyo, kale nno jjangu tuteese ffembi.” Awo ne mmutumira nga njogera nti, “Tewakolebwanga bigambo nga bw'oyogera naye obigunze mu mutima gwo ggwe.” Kubanga bonna baali baagala kututiisa nga bagamba nti, “Emikono gyabwe girifuuka minafu bave ku mulimu guleme okukolebwa.” Naye kaakano, ayi Katonda, nyweza ggwe emikono gyange. Awo ne nnyingira mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya muzzukulu wa Meketaberi eyasibibwa; n'ayogera nti, “Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda mu Yeekaalu, era tuggalewo enzigi za Yeekaalu; kubanga bagenda kujja okukutta; weewaawo, mu kiro mwe banajjira okukutta.” Ne njogera nti, “Omusajja eyenkana awo nga nze yandidduse? Era ani eyenkana nga nze eyandiyingidde mu Yeekaalu okuwonya obulamu bwe? Sijja kuyingiramu.” Ne ntegeera, era, laba, nga Katonda teyamutuma, naye ye yandagulako obunnabbi buno, era Tobiya ne Sanubalaati baali bamuguliridde. Kyeyava aguliririrwa ntye nkole bwe ntyo nnyonoone, babeeko kwe banaggya ensonga ey'ebigambo ebibi, banvume. Ayi Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanubalaati ng'ebikolwa byabwe ebyo bwe byali, era ne nnabbi omukazi Nowadiya, ne bannabbi abalala abandintiisizza. Bwe kityo bbugwe n'aggwa okukola ku lunaku olw'abiri mu ttaano olw'omwezi Eruli, era omulimu ogwo gwakolebwa mu nnaku ataano mu bbiri. Awo olwatuuka abalabe baffe bonna bwe baawulira bwe batyo, bannamawanga bonna abatwetoolodde ne batya ne baggweeramu ddala omwoyo mu maaso gaabwe bo, kubanga baalaba ng'omulimu guno gwakolebwa Katonda waffe. Era mu nnaku ezo abakungu ba Yuda ne baweereza Tobiya ebbaluwa nnyingi, era ne Tobiya ng'abaddamu. Kubanga mu Yuda mwalimu bangi abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala; era ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya. Era ne boogera ku bikolwa bye ebirungi mu maaso gange, ne bamubuuliranga ne bye njogedde. Tobiya n'aweereza ebbaluwa okuntiisa. Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, era ng'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi balondeddwa, awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi, kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi. Ne mbagamba nti, “Enzigi za Yerusaalemi teziggulwangawo ng'omusana tegunnakaalaama; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba, era mussengawo abakuumi okuva mu batuuze b'omu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, ng'ayolekera ennyumba ye.” Era ekibuga kyali kigazi era kinene, naye abantu abaali omwo baali batono, nga n'ennyumba tennazimbibwa. Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne nzuula ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okuva mu buwaŋŋanguse nga bawandiikiddwamu bwe bati: Bano be bantu ab'essaza abaakomawo okuva mu bunyage bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe; abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Azaliya, Laamiya, Nakamani, Moluddekaayi, Birusani, Misuperesi, Biguvayi, Nekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja ab'oku bantu ba Isiraeri: abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri (2,172). Abaana ba Sefatiya, bisatu mu nsanvu mu babiri (372). Abaana ba Ala, lukaaga mu ataano mu babiri (652). Abaana ba Pakasumowaabu, ow'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na munaana (2,818). Abaana ba Eramu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254). Abaana ba Zattu, lunaana mu ana mu bataano (845). Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga (760). Abaana ba Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana (648) Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana (628). Abaana ba Azugaadi, enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322). Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667). Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067). Abaana ba Adini, lukaaga mu ataano mu bataano (655). Abaana ba Ateri, owa Keezeekiya, kyenda mu munaana (98). Abaana ba Kasumu, bisatu mu abiri mu munaana (328). Abaana ba Bezayi, bisatu mu abiri mu bana (324). Abaana ba Kalifu, kikumi mu kkumi na babiri (112). Abaana ba Gibyoni, kyenda mu bataano (95). Abasajja ab'e Besirekemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana (188). Abasajja ab'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana (128). Abasajja ab'e Besuwazumavesi, ana mu babiri (42). Abasajja ab'e Kiriyasuyalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu (743). Abasajja ab'e Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu (621). Abasajja ab'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri (122). Abasajja ab'e Beseri ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu (123). Abasajja ab'e Nebo eky'okubiri, ataano mu babiri (52). Abaana ba Eramu ow'okubiri, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254). Abaana ba Kalimu, bisatu mu abiri (320). Abaana ba Yeriko, bisatu mu ana mu bataano (345). Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu (721). Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930). Bakabona: abaana ba Yedaya, ow'oku nnyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu (973). Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri (1,052). Abaana ba Pasukuli, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247). Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi na musanvu (1,017). Abaleevi: abaana ba Yesuva ow'e Kadumyeri, ow'oku baana ba Kodeva, nsanvu mu bana (74). Abayimbi: abaana ba Asafu, kikumi mu ana mu munaana (148). Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumooni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana (138). Abaweereza b'omu Yeekaalu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi; abaana ba Keriso, abaana ba Siya, abaana ba Padoni; abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Salumayi; abaana ba Kanani, abaana ba Gidderu, abaana ba Gekali; abaana ba Leyaya, abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda; abaana ba Gazzamu, abaana ba Uzza, abaana ba Paseya; abaana ba Besayi, abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefusesimu; abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli; abaana ba Bazulisi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa; abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema; abaana ba Neziya, abaana ba Katifa. Abaana b'abaddu ba Sulemaani; abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Perida; abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi; abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Amoni. Abaweereza b'omu Yeekaalu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali bisatu mu kyenda mu babiri (392). Era bano be baava mu bibuga: Terumeera, Terukalusa, Kerubu, Yaddoni, ne Immeri, naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri: abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ana mu babiri (642). Ne ku bakabona waaliwo bano: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe. Abo ne banoonya we baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale bwabwe, naye ne watalabika, kye baava bababoola ne babagoba mu bwakabona. Omufuzi n'abagamba baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa kabona lw'aliyimirira alina Ulimu ne Sumimu. Ekibiina kyonna wamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360), nga tobaliddeeko baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe bonna baali kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337) era baalina abasajja n'abakazi abayimbi bibiri mu ana mu bataano (245). Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n'ennyumbu zaabwe bibiri mu ana mu ttaano (245), eŋŋamira zaabwe zaali bina mu asatu mu ttaano (435), n'endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eby'okukola omulimu. Omufuzi n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi (1,000), ebibya ataano (50), ebyambalo bya bakabona bitaano mu asatu (530). Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu emitwalo ebiri (20,000), ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bibiri (2,200). N'ebyo abantu abalala bye baawa byali daliki eza zaabu emitwalo ebiri (20,000) ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri (2,000), n'ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu (67). Awo bakabona, n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abamu ku bantu aba bulijjo, n'Abaweereza b'omu Yeekaalu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu bibuga byabwe. Awo omwezi ogw'omusanvu okutuuka, nga abaana ba Isiraeri bali mu bibuga byabwe. Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge yalagira Isiraeri. Ezera kabona n'aleeta amateeka mu maaso g'ekibiina, abasajja era n'abakazi ne bonna abaayinza okuwulira n'okutegeera, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu. Awo n'asoma okuva mu kyo mu maaso g'ekifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi, okuva enkya mu makya okutuusa ettuntu, abasajja n'abakazi nga weebali, n'abo abayinza okutegeera; abantu bonna ne batega amatu okuwulira ekitabo eky'amateeka. Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya, Sema, Anaya, Uliya, Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono ne wayimirira Pedaya, Misayeri, Malukiya, Kasumu, Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu. Awo Ezera n'ayanjululiza ekitabo mu maaso g'abantu bonna; kubanga yali ayimiridde waggulu w'abantu bonna; kale bwe yakyanjuluza, abantu bonna ne bayimirira. Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe. Era Yesuwa, Baani, Serebiya, Yamini, Akkubu, Sabbesayi, Kodiya, Masseya, Kerita, Azaliya, Yozabadi, Kanani, Peraya n'Abaleevi ne bayamba abantu okutegeera amateeka, abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe. Ne basoma mu ddoboozi eriwulikika, ebiri mu kitabo ky'amateeka ga Katonda, nga bannyonnyola amakulu, abantu basobole okutegeera ebyasomebwa. Awo Nekkemiya omufuzi ne Ezera kabona era omuwandiisi n'Abaleevi abaayigirizanga abantu ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba maziga.” Kubanga abantu bonna baakaaba amaziga bwe baawulira ebigambo eby'omu mateeka. Awo n'abagamba nti, “Mweddireyo, mulye ebyassava, munywe ebiwoomerevu, mugabanyizeeko n'abo abatabirina, kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe, so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.” Awo Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga boogera nti, “Musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu; so temunakuwala.” Awo abantu bonna ne beddirayo okulya n'okunywa n'okugabira ku bannaabwe emigabo n'okusanyuka essanyu lingi, kubanga bategedde ebigambo ebibabuuliddwa. Awo ku lunaku olwokubiri abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza bantu bonna, bakabona n'Abaleevi ne bakuŋŋaanira awali Ezera omuwandiisi, okuyiga ebigambo eby'amateeka. Ne balaba ebyawandiikibwa mu mateeka Mukama ge yawa nga ayita mu Musa, nti abaana ba Isiraeri basulenga mu nsiisira mu mbaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu, bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti, “Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.” Awo abantu ne bafuluma ne bagaleeta ne beekolera ensiisira, buli muntu waggulu ku nnyumba ye ne mu mpya zaabwe ne mu mpya z'ennyumba ya Katonda ne mu kifo ekigazi eky'oku mulyango ogw'amazzi ne mu kifo ekigazi eky'okumulyango gwa Efulayimu. Awo ekibiina kyonna eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira; kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe batyo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo. Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olwolubereberye okutuuka ku lunaku olw'enkomerero olw'embaga n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri. Awo ku lunaku olw'abiri mu ennya (24) olw'omwezi guno abaana ba Isiraeri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka. Awo ezzadde lya Isiraeri ne beeyawula okuva mu bannamawanga bonna, ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe. Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe okumala ekitundu ekyokuna eky'olunaku; n'ekitundu ekyokuna ekirala ne bakimala nga baatula ebibi byabwe, era ne basinza Mukama Katonda waabwe. Awo Yesuwa, Baani, Kadumyeri, Sebaniya, Bunni, Serebiya, Baani ne Kenani, ne bayimirira ku madaala g'Abaleevi ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n'eddoboozi ddene. Awo Abaleevi, Yesuwa, Kadumyeri, Baani, Kasabuneya, Serebiya, Kodiya, Sebaniya ne Pesakiya ne bagamba abantu nti, “Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe nga mugamba nti, ‘Okuva emirembe gyonna n'okutuusa emirembe gyonna, erinnya lyo ery'ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa, okusinga okwebaza kwonna n'okutendereza. ’” Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n'eggye lyalyo lyonna, ensi n'ebintu byonna ebiri omwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n'eggye ery'omu ggulu likusinza. Ggwe Mukama Katonda yennyini, eyalonda Ibulayimu n'omuggya mu Uli ey'Abakaludaaya, n'omuwa erinnya Ibulayimu; n'olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n'olagaana naye endagaano okuwa ezzadde lye ensi ey'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omuyebusi, n'Omugirugaasi; era n'otuukirizza ebigambo byo; kubanga ggwe mutuukirivu. Era walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri n'owulira okukaaba kwabwe ku ttale ly'Ennyanja Emmyufu; 'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero. Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja nga abayita ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi. Era nate n'obaluŋŋamya ng'oyima mu mpagi ey'ekire emisana; era ng'oyima mu mpagi ey'omuliro ekiro, okubamulisiza mu kkubo lye baba bayitamu. Era wakka ku lusozi Sinaayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu n'obawa ensala entuufu n'amateeka ag'amazima, ebyabakuutirwa ebirungi n'ebiragiro; n'obamanyisa Ssabbiiti yo entukuvu, n'obalagira ebiragiro n'amateeka ne tawuleeti mu mukono gwa Musa omuddu wo, n'obawanga emmere eyava mu ggulu olw'enjala yaabwe, n'obaggira amazzi mu lwazi olw'ennyonta yaabwe, n'obalagira bayingire okulya ensi gye wasuubiza okubawa. “Naye bo ne bajjajjaffe ne bakola eby'amalala, ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne batawulira biragiro byo, ne bagaana okugonda, so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne beerondera omukulembeze nga bajeemye okubazzaayo mu buddu bwabwe; naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka. Weewaawo, bwe baakola ennyana ensaanuuse, ne boogera nti, ‘Ono ye Katonda wo eyakuggya mu Misiri,’ era nga bakoze ebivvoola ennyo; naye ggwe olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobaleka mu ddungu, empagi ey'ekire teyabavangako emisana okubaluŋŋamiza mu kkubo; newakubadde empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza n'okubalaga ekkubo lye baba bayitamu. Era wawa omwoyo gwo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga maanu yo mu kamwa kaabwe, n'obawa amazzi olw'ennyonta yaabwe. Weewaawo, wabaliisiza emyaka ana (40) mu ddungu, ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n'ebigere byabwe tebyazimbanga. Era wabawa obwakabaka n'amawanga ge wagaba ng'emigabo gyabwe bwe gyali, kale ne balya ensi ya Sikoni, ensi ya kabaka w'e Kesuboni, n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani. Era n'abaana baabwe wabaaza ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'obayingiza mu nsi gye wagambako bajjajjaabwe nga baligiyingira okugirya. Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala. Ne bawamba ebibuga ebyaliko enkomera, n'ensi engimu, ne batwala ennyumba ezajjula ebirungi byonna, n'enzizi ezisimiddwa, ensuku ez'emizabbibu, n'ez'emizeyituuni, n'emiti egibala ebibala mingi nnyo; awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi. Era naye ne batagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go emabega waabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy'oli, ne bakolanga ebivvoola ennyo. Kye wava obagabulanga mu mukono gw'abalabe baabwe abaabeeraliikirizanga, kale mu kiseera mwe baalabira ennaku bwe baakukaabiranga, n'obawuliranga ng'oyima mu ggulu; era ng'okusaasira kwo okutali kumu bwe kwali n'obawanga abalokozi abaabalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe. Naye bwe baamalanga okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go, kye wava obalekanga mu mukono gw'abalabe baabwe n'okufuga ne babafuga; naye bwe baakomangawo ne bakukaabira, n'owulira, ng'osinziira mu ggulu; n'obawonyanga emirundi mingi ng'okusaasira kwo bwe kwali; n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go. Naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, so nga omuntu bw'agikola anaabanga mulamu gyo ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira. Naye n'obagumiikiririzanga emyaka mingi, n'obanga mujulirwa eri bo n'omwoyo gwo mu bannabbi bo; naye ne batayagalanga kutega kutu. Olw'ekyo kye wava obagabulanga mu mukono gw'amawanga ag'omu nsi. Naye olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobamalirangawo ddala, so tewabalekanga; kubanga ggwe oli Katonda wa kisa era ow'okusaasira. Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow'amaanyi, ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakungu baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b'e Bwasuli na buli kati. Naye ggwe mutuukirivu mu byonna ebyatubangako kubanga wakolanga eby'amazima, naye ffe twakolanga obubi: so ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga mateeka go so tebaawuliranga biragiro byo wadde okulabula kwo kwe wabalabulanga. Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebiri. Laba, tuli baddu leero, n'ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo. Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe; era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi.” “Era naye ebyo byonna newakubadde nga bibaddewo, tulagaana endagaano ey'enkalakkalira, era tugiwandiika; abakungu baffe n'Abaleevi baffe ne bakabona baffe ne bagissaako akabonero.” Era abo abassaako akabonero be bano: Nekkemiya omufuzi, mutabani wa Kakaliya, ne Zeddekiya; Seraya, Azaliya ne Yeremiya; Pasukuli, Amaliya ne Malukiya; Kattusi, Sebaniya ne Malluki; Kalimu, Meremoosi ne Obadiya; Danyeri, Ginnesoni ne Baluki; Messulamu, Abiya ne Miyamini; Maaziya, Birugayi ne Semaaya; abo be baali bakabona. n'Abaleevi abaatekako emikono be bano: Yesuwa mutabani wa Azaniya, Binnuyi ow'oku baana ba Kenadadi ne Kadumyeri; ne baganda baabwe, Sebaniya, Kodiya, Kerita, Peraya ne Kanani; Mikka, Lekobu ne Kasabiya; Zakkuli, Serebiya ne Sebaniya; Kodiya, Baani ne Beninu. Abakulembeze b'abantu abaatekako emikono be bano: Palosi, Pakasumowaabu, Eramu, Zattu ne Baani; Bunni, Azugaadi ne Babayi; Adoniya, Biguvayi ne Adini; Atera, Keezeekiya ne Azzuli; Kodiya, Kasumu ne Bezayi; Kalifu, Anasosi ne Nobayi; Magupiyasi, Mesullamu ne Keziri; Mesezaberi, Zadoki ne Yadduwa; Peratiya, Kanani ne Anaya; Koseya, Kananiya ne Kassubu; Kallokesi, Piruka ne Sobeki; Lekumu, Kasabuna ne Maaseya; Akiya, Kanani ne Anani; Malluki, Kallimu ne Baana. Abantu abalala bonna, bakabona n'Abaggazi, n'abayimbi, n'abaweereza b'omu Yeekaalu, n'abo bonna abeeyawula okuva mu mawanga ag'omu nsi eyo ne bagoberera amateeka ga Katonda, nga bali wamu ne bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe, na buli muntu eyalina amagezi ag'okumanya n'okutegeera; ne beegatta ne baganda baabwe, n'abakungu baabwe, ne beegwanyiza ekikolimo n'ekirayiro okutambuliranga mu mateeka ga Katonda ge yawa nga agayisa mu Musa omuddu we era n'okukwatanga n'okukolanga ebiragiro byonna ebya Mukama, Katonda waffe, n'emisango gye n'amateeka ge; era tulemenga okuwa bawala baffe mu b'amawanga ag'omu nsi, newakubadde okutwaliranga batabani baffe bawala baabwe; era amawanga ag'omu nsi bwe banaaleetanga ebintu oba eby'okulya byonna okutundira ku lunaku olwa Ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newakubadde ku lunaku olulala lwonna olutukuvu; era tetuulimenga misiri gyaffe mu mwaka ogw'omusanvu, n'okubanjizangamu ebbanja lyonna. Era ne tweteekerawo amateeka, ne twesalira okuwangayo buli mwaka ekitundu eky'okusatu ekya sekeri olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda waffe; Era tunaawangayo ebintu bino: emigaati egy'okulaga, n'ebiweebwayo buli lunnaku eby'obutta n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'oku Ssabbiiti n'eby'oku myezi egyakaboneka, n'olw'embaga ezaateekebwawo, n'ebintu ebirala ebitukuvu n'ebiweebwayo okutangirira ebibi bya Isiraeri, n'olw'emirimu gyonna egy'omu nnyumba ya Katonda waffe. Ne tukuba obululu, bakabona n'Abaleevi, n'abantu abalala, olw'ekiweebwayo eky'enku, okuzireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe ng'ennyumba za bakitaffe bwe zaali; mu biseera ebyalagirwa buli mwaka, okwokeranga ku kyoto kya Mukama Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka. Tweyamye n'okuleetanga ebibala ebibereberye eby'ettaka lyaffe, n'ebibereberye eby'ebibala byonna eby'oku miti egy'engeri zonna buli mwaka mu nnyumba ya Mukama; era n'ababereberye ku batabani baffe ne ku bisibo byaffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, n'ebibereberye ku nte zaffe ne ku ndiga zaffe okubireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe eri bakabona abaaweererezanga mu nnyumba ya Katonda waffe. Buli mwaka tunaaleetanga ebibereberye eby'omugoyo gwaffe n'ebiweebwayo byaffe ebisitulibwa, n'ebibala eby'oku miti egy'engeri zonna, omwenge n'amafuta, eri bakabona mu bisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe; n'ebitundu eby'ekkumi eby'amakungula gaffe eri Abaleevi; kubanga abo, Abaleevi, be baaweebwa ebitundu eby'ekkumi mu bibuga byonna gye tulimira. Era kabona ava mu nnyumba ya Alooni anaabanga wamu n'Abaleevi, Abaleevi bwe banaaweebwanga ebitundu eby'ekkumi eky'oku bitundu eby'ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge mu nnyumba ey'okuterekamu eby'obugagga. Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Leevi banaaleetanga ekiweebwayo ekisitulibwa eky'eŋŋaano n'eky'omwenge n'eky'amafuta mu bisenge omuli ebintu eby'omu kifo ekitukuvu, ne bakabona abaweereza n'abaggazi n'abayimbi; so tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe. Awo abakulu b'abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi; era n'abantu abalala ne bakuba obululu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okumuleeta okubeera mu Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, ne bali omwenda okubeera mu bibuga ebirala. Awo abantu ne beebaza abasajja bonna abeeronda ku bwabwe okubeera mu Yerusaalemi. Era bano be bakulu b'essaza abaabeeranga mu Yerusaalemi; naye mu bibuga bya Yuda ne mubeeramu buli muntu mu butaka bwe mu bibuga byabwe, Isiraeri, bakabona, n'Abaleevi, n'Abaweereza b'omu Yeekaalu, n'abaana b'abaddu ba Sulemaani. Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu abamu ku baana ba Yuda, n'abamu ku baana ba Benyamini. Ku baana ba Yuda mwalimu: Ataya mutabani wa Uzziya mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleri ow'oku baana ba Pereezi; ne Maaseya mutabani wa Baluki, mutabani wa Kolukoze, mutabani wa Kazaya, mutabani wa Adaya, mutabani wa Yoyalibu, mutabani wa Zekkaliya omwana w'Omusiiro. Batabani ba Pereezi bonna abaabeera mu Yerusaalemi baali bina mu nkaaga mu munaana (468) abasajja abazira. Era bano be batabani ba Benyamini: Sallu mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Yowedi, mutabani wa Pedaya, mutabani wa Kolaya, mutabani wa Maaseya, mutabani wa Isieri, mutabani wa Yesaya. Awo oluvannyuma lw'oyo Gabbayi ne Sallayi, olwenda mu abiri mu munaana (928). Ne Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali ow'okubiri okufuga ekibuga. Ku bakabona: Yedaya mutabani wa Yoyalibu ne Yakini, ne Seraya mutabani wa Kirukiya, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Zadoki, mutabani wa Merayoosi, mutabani wa Akitubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda, ne baganda baabwe abaakolanga omulimu ogw'omu nnyumba, baali lunaana mu abiri mu babiri (822). Okwo kw'ossa ne Adaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Peraliya, mutabani wa Amuzi, mutabani wa Zekkaliya, mutabani wa Pasukuli, mutabani wa Malukiya, ne baganda be, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, bibiri mu ana mu babiri (242) ne Amasusaayi mutabani wa Azaleeri, mutabani wa Azayi, mutabani wa Mesiremosi, mutabani wa Immeri, ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, kikumi mu abiri mu munaana (128) ne Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu ye yali omulabirizi waabwe. Ne ku Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubu, mutabani wa Azulikamu, mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Bunni; ne Sabbesayi ne Yozabadi, ku bakulu b'Abaleevi abaalabiriranga emirimu egy'ebweru egy'ennyumba ya Katonda; ne Mattaniya mutabani wa Mikka, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Asafu eyali omukulu era eyakulemberanga mu kusinza okw'okwebaza, ne Bakubukiya ow'okubiri mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedusuni. Abaleevi bonna abaali mu kibuga ekitukuvu baali bibiri mu kinaana mu bana (284). Era nate abaggazi, Akkubu ne Talumooni ne baganda baabwe abaakuumanga emiryango baali kikumi mu nsanvu mu babiri (172). Abaisiraeri bonna abalala, ku bakabona, n'Abaleevi, baabanga mu bibuga byonna ebya Yuda, buli muntu mu busika bwe. Naye Abaweereza b'omu Yeekaalu ne babeeranga mu Oferi; ne Zika ne Gisupa be baali abakulu b'Abaweerezanga mu Yeekaalu. Ne Uzzi mutabani wa Baani, mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Mattaniya, mutabani wa Mikka, ow'oku baana ba Asafu abayimbi, ye yali omulabirizi w'Abaleevi e Yerusaalemi okulongoosa emirimu egy'omu nnyumba ya Katonda. Kubanga kabaka yali alagidde ebigambo byabwe, era yali akuutidde abayimbi eby'enkalakkalira bye banafunanga nga buli lunaku bwe lwetaaga. Ne Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow'oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yalinga omukono gwa kabaka w'e Buperusi mu bigambo byonna eby'abantu. Abantu abamu baabeeranga mu bibuga ne mu byalo okumpi n'ennimiro zaabwe, abamu ku baana ba Yuda ne babeeranga mu Kirasualuba ne mu bibuga byako, ne mu Diboni n'ebibuga byako, ne mu Yekabuzeeri n'ebyalo byako, ne mu Yesuwa ne mu Molada ne Besupereti; ne mu Kazalusuali ne mu Beeruseba ne mu bibuga byako; ne Zikulagi ne mu Mekona n'ebibuga byako; ne mu Enulimmoni ne mu Zola ne mu Yalamusi; Zanowa ne Adulamu n'ebyalo byako, Lakisi n'ennimiro zaako, Azeka n'ebibuga byako. Bwe batyo bwe baasiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu. Abaana ba Benyamini nabo ne babeeranga okuva e Geba n'okweyongerayo e Mikumasi ne Ayiya, ne Beseri n'ebibuga byako; Anasosi ne Nobu ne Ananiya; Kazoli ne Laama ne Gittayimu; ne Kadidi ne Zeboyimu ne Neballati; ne Loodi ne Ono, ekiwonvu eky'abakozi. Ebibinja by'Abaleevi ebimu eby'omu Yuda n'ebigattibwa ne Benyamini. Era bano be bakabona n'Abaleevi abaakomawo e Yerusaalemi ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa, Seraya ne Yeremiya ne Ezera; ne Amaliya, Malluki ne Kattusi; ne Sekaniya, Lekumu ne Meremoosi; ne Iddo, Ginnesoyi ne Abiya; ne Miyamini, Maadiya ne Biruga; ne Semaaya, Yoyalibu ne Yedaya; ne Sallu, Amoki, Kirukiya ne Yedaya. Abo be baali abakulu ba bakabona n'aba baganda baabwe mu nnaku za Yesuwa. Era nate Abaleevi; Yesuwa, Binnuyi, Kadumyeri, Serebiya, Yuda ne Mattaniya nga y'akulembera ennyimba ez'okwebaza, ye ne baganda be. Ate Bakubukiya ne Unni baganda baabwe ne baayimiriranga okuboolekera mu kuweereza. Yesuwa n'azaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eriyasibu, Eriyasibu n'azaala Yoyaada, Yoyaada n'azaala Yonasaani, Yonasaani n'azaala Yadduwa. Mu nnaku za Yoyakimu ne wabaawo bakabona abakulu b'ennyumba za bakitaabwe; eyali akulira ennyumba ya Seraya ye Meraya; eya Yeremiya ye Kananiya; eya Ezera ye Mesullamu; eya Amaliya, Yekokanani; eya Malluki ye Yonasaani; eya Sebaniya ne Yusufu; eya Kalimu ye Aduna; eya Merayoosi ye Kerukayi; eya Iddo ye Zekkaliya; owa Ginnesoni ye Mesullamu; eya Abiya ye Zikuli; owa Miniyamini n'owa Mowadiya ye Pirutayi; eya Biruga ye Sammuwa; eya Semaaya ye Yekonasani; n'eya Yoyalibu ye Mattenayi; eya Yedaya ye Uzzi; eya Sallayi ye Kallayi; eya Amoki ye Eberi; eya Kirukiya ye, Kasabiya; eya Yedaya ye Nesaneeri. Abaleevi mu nnaku za Eriyasibu, Yoyada, Yokanani ne Yadduwa, ne bawandiikibwa nga be bakulu b'ennyumba za bakitaabwe; era ne bakabona ne bawandiikibwa okutuusa nga Daliyo Omuperusi ye kabaka. Batabani ba Leevi, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ne bawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omu mirembe okutuusa ku nnaku za Yokanani mutabani wa Eriyasibu. N'abakulu b'Abaleevi: Kasabiya, Serebiya ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri ne baganda baabwe nga baboolekedde n'ebatenderezanga n'okwebazanga ng'ekiragiro bwe kyali ekya Dawudi omusajja wa Katonda, ekibinja nga kyolekedde ekibinja. Mattaniya, Bakubukiya, Obadiya, Mesullamu, Talumooni ne Akkubu be baali abaggazi nga bakuuma amawanika ag'oku miryango. Abo be baaliwo mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, n'ebya Ezera kabona omuwandiisi. Awo bwe baatukuza bbugwe wa Yerusaalemi, ne banoonya Abaleevi mu bifo byabwe byonna, okubaleeta e Yerusaalemi, okukwata embaga ey'okutukuza n'essanyu, nga beebaza era nga bayimba, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga. Abaana b'abayimbi ne bakuŋŋaana, okuva mu lusenyi olw'etoolodde Yerusaalemi ne mu byalo eby'Abanetofa; era ne mu Besugirugaali ne mu nnimiro ez'oku Geba ne Azumavesi; kubanga abayimbi baali beezimbidde ensiisira okwetooloola Yerusaalemi. Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza; ne batukuza abantu, n'emiryango ne bbugwe. Awo ne nnyambusa abakulu ba Yuda ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene abeebaza ne batambula nga basimbye ennyiriri; ekimu nga kitambulira ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe mu kkubo ery'omulyango ogw'obusa; n'oluvannyuma lwabwe Kosaaya n'atambula n'ekitundu eky'abakulu ba Yuda, ne Azaliya, Ezera ne Mesullamu ne Yuda, Benyamini, Semaaya ne Yeremiya, n'abamu ku baana ba bakabona nga balina amakkondeere, Zekkaliya mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Semaaya, mutabani wa Mattaniya, mutabani wa Mikaaya, mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Asafu; ne baganda be, Semaaya, Azaleeri, Miralayi, Giralayi, Maayi, Nesaneeri, Yuda ne Kanani, nga balina ebivuga ebya Dawudi omusajja wa Katonda; ne Ezera omuwandiisi ng'abakulembedde. Awo ne bayita mu mulyango ogw'oluzzi n'okusimba mu maaso gaabwe ne balinnya ku lutindo olw'ekibuga kya Dawudi, bbugwe w'ayambukira waggulu w'ennyumba ya Dawudi okutuusa ku mulyango ogw'amazzi ebuvanjuba. N'ekibiina eky'okubiri eky'abo abeebaza ne bagenda okubasisinkana, nange nga mbavaako emabega, wamu n'ekitundu ky'abantu ku bbugwe engulu w'omunaala ogw'ebikoomi, okutuusa ku bbugwe omugazi; ne tuyita engulu w'omulyango gwa Efulayimu, n'awali omulyango omukadde, n'awali omulyango ogw'ebyennyanja, n'eku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gwe Kikumi, okutuusa ku mulyango ogw'endiga; ne bayimirira buyimirizi mu mulyango ogw'abakuumi. Awo ebibiina byombi eby'abo abeebaliza mu nnyumba ya Katonda ne biyimirira, nange nnenyimirira awamu n'ekitundu ky'abakulu abaali nange; ne bakabona, Eriyakimu, Maaseya, Miniyamini, Mikaaya, Eriwenayi, Zekkaliya ne Kananiya nga balina amakkondeere; ne Maaseya, Semaaya, Ereyazaali, Uzzi, Yekokanani, Malukiya, Eramu ne Ezera. Abayimbi ne bayimba n'eddoboozi ddene, Yezulakiya nga ye mukulu waabwe. Ne bawaayo ssaddaaka nnyingi ku lunaku olwo ne basanyuka; kubanga Katonda yali abasanyusizza essanyu lingi; era n'abakazi n'abaana abato ne basanyuka. Awo essanyu ery'e Yerusaalemi n'okuwulirwa ne liwulirirwa wala. Awo ku lunaku olwo abasajja ne balondebwa ab'okulabiriranga enju ez'amawanika olw'ebiweebwayo ebisitulibwa, olw'ebibala ebibereberye, n'olw'ebitundu eby'ekkumi, okuzikuŋŋaanyizaamu, ng'ennimiro ez'oku bibuga bwe zaali, emigabo egyalagirwa bakabona n'Abaleevi mu mateeka, kubanga Yuda yasanyuka olwa bakabona n'Abaleevi abaaweereza. Era baakwata okuweereza Katonda waabwe, n'okuweereza okw'okwetukuza, era nga n'abayimbi n'abaggazi nabo bwe baakola ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Sulemaani mutabani we. Kubanga mu mirembe gya Dawudi ne Asafu edda waabangawo omukulu w'abayimbi, n'ennyimba ez'okutenderezanga n'okwebazanga Katonda. Era Isiraeri yenna mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya ne bawa emigabo gy'abayimbi n'abaggazi ng'ebyagwaniranga buli lunaku bwe byali; era ne bategeka n'egyo egy'Abaleevi, ate n'Abaleevi ne bategeka egyo egya batabani ba Alooni. Ku lunaku olwo, ne basoma mu kitabo kya Musa abantu nga baawulira; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo nti, Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna; kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri okubawa emmere wadde amazzi, naye ne bagulirira Balamu abakolimire, era naye Katonda waffe n'afuula ekikolimo okuba omukisa. Awo olwatuuka abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne balyoka baawula okuva mu Isiraeri ekibiina kyonna eky'abannamawanga. Era ebyo nga tebinnabaawo Eriyasibu kabona eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe, yali mukoddomi wa Tobiya, era n'ategekera Tobiya oyo ekisenge ekinene, ekyakuumirwangamu edda ebiweebwayo eby'obutta, n'omugavu, n'ebintu, n'ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, Abaleevi bye baaweebwanga olw'ekiragiro n'abayimbi n'abaggazi; n'ebiweebwayo ebisitulibwa ebya bakabona. Naye ebyo byonna okubaawo nze nga siri Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw'asatu mu ebiri (32) ogwa Alutagizerugizi kabaka w'e Babbulooni, nali ŋŋenze eri kabaka. Bwe waayitawo ekiseera, ne mmusaba n'anzikiriza, ne nzirayo e Yerusaalemi. Ne njija e Yerusaalemi ne ntegeera obubi Eriyasibu bwe yali akoze olwa Tobiya, ng'amutegekera ekisenge mu mpya ez'ennyumba ya Katonda. Ne kinnakuwaza nnyo, kyennava nkasuka ebweru ebintu byonna eby'omu nnyumba ebya Tobiya okubiggya mu kisenge. Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge, ne nzizaayo eyo ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda n'ebiweebwayo eby'obutta n'omugavu. Ne ntegeera nga Abaleevi baali tebannaweebwa migabo gyabwe; awo Abaleevi n'abayimbi abaakolanga omulimu nga baddukidde buli muntu mu kyalo kye. Awo ne mpakanya abakulu ne njogera nti, “Kiki ekiresezza ennyumba ya Katonda?” Ne mbakuŋŋaanya ne mbateeka mu kifo kyabwe. Awo aba Yuda bonna ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta mu mawanika. Ne nzisaawo abawanika ku mawanika, Seremiya kabona ne Zadoki omuwandiisi, ne ku Baleevi, Pedaya, ne Kanani ye yabaddirira mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya, kubanga baalowoozebwa okuba abeesigwa, n'omulimu gwabwe gwali kugabiranga baganda baabwe. Onzijukiranga, ayi Katonda wange, olw'ekigambo ekyo, so tosangula bikolwa byange ebirungi bye nnakolera ennyumba ya Katonda wange n'olw'emirimu egikolerwamu. Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basogola ku Ssabbiiti mu masogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabbibu n'ettini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingizanga mu Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti; ne mbalabula ku lunaku olwo obutatundirako eby'okulya. Era mwabeeramu abasajja ab'e Ttuulo abaayingizanga ebyennyanja n'ebintu eby'engeri zonna, ne baabiguzanga abaana ba Yuda ne mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Awo ne ndyoka mpakanya abakungu ba Yuda ne mbagamba nti, “Kibi ki kino kye mukola ne mwonoona olunaku olwa Ssabbiiti?” Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? Era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu bwa Katonda ku Isiraeri nga mwonoona Ssabbiiti. Awo olwatuuka ekizikiza bwe kyasooka okukwata enzigi ez'e Yerusaalemi Ssabbiiti ng'eneebaako enkya, ne ndagira okuggalawo enzigi, ne ndagira obutaziggulawo okutuusa Ssabbiiti lw'eriggwaako, ne nteeka abamu ku baddu bange ku nzigi, baleme okuyingiza omugugu gwonna ku lunaku olwa Ssabbiiti. Awo abasuubuzi n'abatunzi b'ebintu eby'engeri zonna ne basula ebweru wa Yerusaalemi omulundi gumu oba ebiri. Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti, “Kiki ekibasuza okwetooloola bbugwe? Bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata.” Awo okuva ku lunaku olwo ne baatakomawo nate ku Ssabbiiti. Awo ne ndagira Abaleevi okwetukuza, era n'okujja okukuuma enzigi, okutukuza olunaku olwa Ssabbiiti. Onjijukiriranga, ayi Katonda wange, na kino, onsonyiwe ng'okusaasira kwo bwe kwenkana obungi. Mu biro ebyo era ne ndaba Abayudaaya abaali bawasizza abakazi ba Asudodi n'aba Amoni n'aba Mowaabu; n'abaana baabwe baayogeranga lulimi lwa ba Asudodi, so nga tebaayinza kwogera lulimi lwa Bayudaaya, naye ng'olulimi olwa buli ggwanga lyabali bwe lwali. Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti, “Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini temuubawasenga. Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyeyonoona olwa abakazi ng'abo? Naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna, era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa. Kale tunaawuliriza mmwe, okukolanga obubi obwenkanidde awo okusobya Katonda waffe nga tuwasa abakazi ab'amawanga?” Era omu ku batabani ba Yoyada, mutabani wa Eriyasibu kabona asinga obukulu, yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni; kyennava mmugoba okuva wendi. Obajjukiranga, ayi Katonda wange, kubanga baayonoona obwakabona n'endagaano ey'obwakabona n'ey'Abaleevi. Bwe ntyo bwe nnabalongoosa abantu okubaggyako byonna ebya bannamawanga bonna, ne nteekawo ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli muntu mu mulimu gwe; era ne nkola entegeka olw'ekiweebwayo eky'enku mu biro ebyateekebwawo, n'olw'ebibala ebibereberye. Onjijukiranga, ayi Katonda wange, okunkola obulungi. Awo olwatuuka ku mirembe gya Akaswero, Akaswero oyo ye yali afuga obwakabaka okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127) Awo ku mirembe egyo, kabaka Akaswero bwe yatuula ku ntebe y'obwakabaka bwe eyali mu lubiri lw'e olwali mu kibuga ekikulu Susani, mu mwaka ogwokusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonna n'abaddu be; n'abakulu b'amaggye ag'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maaso ge, kabaka n'ayoleseza ennaku nnyingi obugagga obw'obwakabaka bwe n'ekitiibwa n'ettendo ery'obukulu bwe obutasingika, ennaku kikumi mu kinaana (180). Awo ennaku ezo bwe zaggwaako, kabaka n'afumbira embaga abantu bonna abaali awo mu lubiri lw'e Susani, abakulu n'abato, ennaku musanvu, mu luggya olwali mu maaso g'ennimiro z'olubiri lwa kabaka; waaliwo ebitimbiddwa eby'olugoye olweru n'olwa nnawandagala n'olwa kaniki, nga zisibiddwa n'emigwa egya bafuta ennungi n'olw'effulungu n'empeta eza ffeeza n'empagi ez'amayinja aganyirira, ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaaliire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'aga kyenvu n'amaddugavu. Eby'okunywa byagabulirwa mu binywerwamu ebya zaabu, ebinywerwamu ebyo byali byanjawulo nga tebifaanana, n'omwenge gwa kabaka gwali mungi nnyo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali. N'okunywa ne kuba ng'amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza, kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo abaami bonna ab'omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayagala. Ne Vasuti kaddulubaale naye n'afumbira abakazi embaga mu nnyumba ya kabaka, Akaswero. Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw'omwenge, n'alagira Mekumani, Bizusa, Kalubona, Bigusa, Abagusa, Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maaso ga Akaswero kabaka, okuleeta Vasuti kaddulubaale mu maaso ga kabaka ng'atikidde engule ey'obwakabaka ayolese eri amawanga n'abakungu obulungi bwe; kubanga kaddulubaale yali mulungi okutunuulira. Naye kaddulubaale Vasuti n'agaana okujja nga kabaka bwe yalagira nga amutuumira abalaawe, kabaka kye yava asunguwala nnyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye. Awo kabaka n'agamba abagezi abaategeera ebiro, kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka okwebuuza ku bakugu mu by'amateeka n'emisango. Abasajja abali okumpi naye baali: Kalusena, Sesali, Adumasa, Talusiisi, Meresi, Malusema ne Memukani, abakungu omusanvu (7) ab'e Buperusi n'e Bumeedi, abaalabanga amaaso ga kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez'oku mwanjo mu bwakabaka, abo be baamuddiriranga. “Okusinziira ku mateeka tunaakola tutya kaddulubaale Vasuti, kubanga takoze ekyo kabaka Akaswero ky'amulagidde; bwamutumidde abalaawe?” Awo Memukani n'addamu mu maaso ga kabaka n'abakungu nti, “Vasuti kaddulubaale tanyoomye kabaka yekka era naye n'abakungu bonna n'amawanga gonna agali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero. Kubanga ekikolwa kino ekya kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi bonna okunyoomanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga nti, ‘Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuleetebwa mu maaso ge naye n'atajja.’ Awo ku lunaku luno abakyala ab'e Buperusi n'e Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna aba kabaka. Kale walibaawo okunyooma kungi n'obusungu. Kabaka bw'anaasiima bw'atyo, alaalike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireme okuwaanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kaddulubaale kabaka abuwe omulala amusinga obulungi. Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly'anaateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, kubanga bunene, kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa babbaabwe, abakulu n'abato.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka n'abalangira; kabaka n'akola ng'ekigambo kya Memukani bwe kyali; kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka, mu buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, buli musajja afugenga mu nnyumba ye ye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwali. Awo oluvannyuma lw'ebyo, obusungu bwa kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, n'alyoka ajjukira Vasuti n'ekyo kye yakola, n'ekyo ekyali kimulangiriddwako. Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti, “Banoonyeze kabaka abawala abato abalungi abatamanyi musajja. Era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, bakwasibwe Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okwerongoosa bibaweebwe. Awo omuwala kabaka gw'alisiima abe Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; era n'akola bw'atyo. Waaliwo Omuyudaaya mu Susani mu lubiri, erinnya lye Moluddekaayi mutabani wa Yayiri, Yayiri mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Kiisi Omubenyamini; eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwalirwa awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni gwe yatwala. Moluddekaayi yalera Kadassa, era ayitibwa Eseza muwala wa kitaawe omuto, kubanga teyalina kitaawe newakubadde nnyina, era omuwala oyo yali mulungi nnyo; awo nnyina ne kitaawe bwe baafa, Moluddekaayi n'amutwala okuba omwana we ye. Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga bakuŋŋaanidde e Susani mu lubiri ne baakwasibwa Kegayi, awo Eseza naye n'atwalibwa mu nnyumba ya kabaka nnaakwasibwa Kegayi omukuumi w'abakazi. Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa gyali; n'amuyisa bulungi; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okwerongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu baagwanira okuweebwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka, n'amujjulula ye n'abawala be n'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi. Eseza yali tategeezanga abantu be bwe baali newakubadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amukuutidde obutakyogera. Era Moluddekaayi n'ayitanga buli lunaku mu maaso g'oluggya lw'ennyumba ey'abakazi, okumanya Eseza bw'ali, era n'ebimukwatako. Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwatuuka okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amaze okukolerwa ebyetaagisa ng'etteeka ery'abakazi bwe liri emyezi kkumi n'ebiri (12), kubanga ennaku ez'okulongoosa kwabwe bwe zaali bwe zityo, emyezi mukaaga baasimulwanga amafuta ag'omugavu, n'emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu ebirala eby'okulongoosa abakazi. Kale bw'atyo omuwala bwe yagendanga eri kabaka, kyonna kye yayagalanga y'akiweebwanga okugenda nakyo ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka. Yagendanga akawungeezi n'akomawo enkya mu nnyumba ey'abakazi eyokubiri nnaakwasibwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana; teyaddangayo nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya. Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto, gwe yali atwalanga omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira. Awo Eseza n'atwalibwa eri kabaka Akaswero mu nnyumba ye eya kabaka mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi Tebesi mu mwaka ogw'omusanvu ogw'okufuga kwe. Awo kabaka n'ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n'alaba ekisa n'okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna, n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti. Awo kabaka n'alyoka afumbira abakungu be bonna n'abaddu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyiwa emisolo, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali. Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogwokubiri, Moluddekaayi yali atudde mu mulyango gwa kabaka. Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddekaayi bwe yamukuutira; kubanga Eseza yaagondera ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng'akyamulera. Awo mu biro ebyo, Moluddekaayi ng'atudde mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga oluggi, ne basunguwala ne bagezaako okutemula kabaka Akaswero. Awo ekigambo ekyo ne kimanyibwa Moluddekaayi n'akibuulira Eseza kaddulubaale; Eseza n'abuulira kabaka mu linnya lya Moluddekaayi. Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabikanga kyali kituufu, bombi ne bawanikibwa ku muti. Awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebibaawo ebikulu mu maaso ga kabaka. Awo oluvannyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n'amusukkiriza, n'agulumiza entebe ye okusinga abakungu bonna abali naye. Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka, ne bavunnamiranga Kamani okumuwa ekitiibwa, nga kabaka bwe yali alagidde. Naye Moluddekaayi n'atamuvuunamiranga era n'atamuwa kitiibwa. Awo abaddu ba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne babuuza Moluddekaayi nti, “ Lwaki togondera kiragiro kya kabaka?” Awo olwatuuka bwe baayogeranga naye buli lunaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba oba nga anaagumikiriza enneyisa ya Moluddekaayi; kubanga Moluddekaayi yali ababuulidde nga Muyudaaya. Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi tamuvuunamira wadde okumuwa ekitiibwa, kale Kamani n'ajjula obusungu. Naye n'alaba nga tekugasa okukwata Moluddekaayi yekka; kubanga baali bamutegeezezza abantu ba Moluddekaayi bwe baali, Kamani kyeyava asala amagezi okuzikiriza Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero, abantu ba Moluddekaayi. Awo mu mwezi ogwolubereberye, gwe mwezi gwa Nisani, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali. Awo Kamani n'agamba kabaka Akaswero nti, “Waliwo eggwanga ly'abantu abasaasaanye ne babuna mu masaza gonna ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka, bw'ekityo tekigasa kabaka okubagumiikiriza. Kabaka bw'anaasiima, ayise etteeka eriragira bazikirizibwe: nange ndisasula ettalanta eza ffeeza omutwalo gumu (10,000), mu ggwanika ly'obwakabaka; nzikwase abo abalabirira emirimu gy'obwakabaka.” Awo kabaka n'aggya empeta ye ku mukono gwe n'agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya. Awo kabaka n'agamba Kamani nti, “Effeeza ngikuwadde, era n'abantu n'abo obakole nga bw'osiima.” Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli ssaza n'abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali; mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n'empeta ya kabaka. Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n'okutta n'okumalawo Abayudaaya bonna, abavubuka n'abakadde, abaana abato n'abakazi, ku lunaku lumu, olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebbiri, gwe mwezi ogwa Adali, n'okutwala ebintu byabwe okuba omunyago. Ebyaggibwa mu kiwandiiko ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro ne kirangirirwa mu buli ssaza, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo. Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw'ekiragiro kya kabaka, etteeka lyateekebwawo mu kibuga ekikulu Susani. Awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; kyokka ng'ekibuga ekikulu Susani kisobeddwa. Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, Moluddekaayi n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu n'evvu, n'afuluma n'agenda mu kibuga wakati, n'akaaba n'eddoboozi ddene erijjudde ennaku. N'ajja mu maaso g'omulyango gwa kabaka, kubanga tewali eyayinza okuyingira mu mulyango gwa kabaka ng'ayambadde ebibukutu. Awo mu buli ssaza ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye, buli gye byatuukanga ne waba okuwuubaala kungi mu Bayudaaya n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okukuba ebiwoobe; era bangi ne baagalamira nga bambadde ebibukutu n'evvu. Awo abawala ba Eseza n'abalaawe be ne bajja ne bamubuulira; Nnaabagereka n'anakuwala nnyo, n'aweereza ebyambalo Moluddekaayi by'aba ayambala, n'okumuggyako ebibukutu bye, naye n'atabikkiriza. Awo Eseza n'ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza, n'amukuutira okugenda eri Moluddekaayi okumanya ensonga nga bwe yali era ne lwaki kyali bw'ekityo. Awo Kasaki n'afuluma n'agenda eri Moluddekaayi awali ekifo ekigazi eky'ekibuga mu maaso g'omulyango gwa kabaka. Awo Moluddekaayi n'amubuulira byonna ebyamubaako, n'ebintu bwe byenkanira ddala Kamani bye yasuubiza okusasula mu mawanika ga kabaka olw'okuzikiriza Abayudaaya. Era n'amuwa n'ebyaggibwa mu kiwandiiko eky'etteeka eryalaalikibwa mu Susani okubazikiriza, alyoke abirage Eseza era abimunnyonnyole; n'okumukuutira ayingire eri kabaka amwegayirire era asabire abantu be kabaka abaasasire. Awo Kasaki n'ajja n'abuulira Eseza ebigambo bya Moluddekaayi. Awo Eseza n'ayogera ne Kasaki n'amuwa obubaka obw'okutwalira Moluddekaayi, nti, “Abaddu ba kabaka bonna n'abantu ab'omu masaza ga kabaka bamanyi nga buli muntu, oba musajja oba mukazi, anaayingiranga eri kabaka mu luggya olw'omunda atayitiddwa, waliwo etteeka limu eri ye, attibwenga, wabula abo kabaka b'agololera omuggo ogwa zaabu, oyo y'aba omulamu. Naye nze siyitibwanga kuyingira eri kabaka mu nnaku zino asatu.” Awo ne babuulira Moluddekaayi ebigambo bya Eseza. Awo Moluddekaayi n'abalagira okuddiza Eseza ebigambo nti, “ Tolowoozanga mu mwoyo gwo nga ggwe olw'okubeera mu nnyumba ya kabaka ogenda okuwona okusinga Abayudaaya bonna. Kubanga bw'onoosirikira ddala mu biro bino, kale okulokoka n'okuwona kuliva awalala eri Abayudaaya, naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo balizikirira. Era ani amanyi oba nga ozze mu bwa kaddulubaale olw'ebiro ebifaanana nga bino?” Awo Eseza n'abalagira okuddiza Moluddekaayi ebigambo nti, “Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abaliwo mu Susani, mu nsiibire, so temulya newakubadde okunywa ennaku ssatu emisana n'ekiro; era nange n'abawala bange tunaasiiba bwe tutyo, bwe ntyo bwe ndiyingira eri kabaka, ekitali kya mu mateeka; era bwe ndizikirira, ndizikirira.” Awo Moluddekaayi n'addayo n'akola nga byonna bwe byali Eseza by'amulagidde. Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu Eseza n'ayambala ebyambalo bye ebya Nnaabagereka, n'ayimirira mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera ennyumba ya kabaka, kabaka n'atuula ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nnyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'ennyumba. Awo olwatuuka kabaka bwe yalaba Eseza kaddulubaale ng'ayimiridde mu luggya, kale n'aganja mu maaso ge, kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akoma ku musa gw'omuggo. Awo kabaka n'alyoka amugamba nti, “Oyagala ki, Nnaabagereka Eseza? Era kiki ky'osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka.” Awo Eseza n'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, kabaka ne Kamani bajje leero ku embaga gye mmufumbidde.” Awo kabaka n'ayogera nti, “Mwanguye okuleeta Kamani kikolebwe nga Eseza bw'ayogedde.” Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga Eseza gye yali afumbye. Awo kabaka n'agamba Eseza nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti, “Osaba ki? Kinaatuukirizibwa ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka.” Awo Eseza n'addamu n'ayogera nti, “Kye nsaba era kye nneegayirira kye kino; oba nga ŋŋanze mu maaso ga kabaka, era kabaka bw'anaasiima okumpa kye nsaba, n'okutuukiriza kye nneegayirira, kabaka ne Kamani bajje nate ku embaga gye nnaabafumbira, era enkya ndikola nga kabaka bw'agambye.” Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyuse era ng'ajaguzizza mu mwoyo. Naye Kamani bwe yalaba Moluddekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayimirira wadde okumusegulira, n'ajjula obusungu eri Moluddekaayi. Era naye Kamani n'azibiikiriza n'addayo eka, n'atumya mikwano gye n'agamba ne Zeresi mukazi we okubeegattako. Awo Kamani n'ababuulira ekitiibwa ky'obugagga bwe, n'abaana be bwe byenkana obungi, n'ebigambo byonna kabaka mwe yamukuliza, era bwe yamukuza okusinga abakungu ba kabaka n'abaddu be. Era Kamani n'ayogera nti, “Weewaawo, ne Nnaabagereka Eseza teyaganya muntu yenna kuyingira wamu ne kabaka ku embaga gye yali afumbye wabula nze; era n'enkya ampise wamu ne kabaka Naye ebyo byonna tebiriiko kye bingasa nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng'atuula ku mulyango gwa kabaka.” Awo Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti, “Basimbe ekitindiro obuwanvu bwakyo emikono ataano (50), enkya oyogere ne kabaka okuwanika Moluddekaayi okwo; kale olyoke oyingire ne kabaka ku embaga ng'osanyuka.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa Kamani; n'azimbisa ekitindiro. Awo mu kiro ekyo kabaka n'atayinza kwebaka; n'alagira okumuleetera ekitabo ekijjukiza eky'ebigambo ebikulu, ne babisomera mu maaso ga kabaka. Awo ne basanga nga kyawandiikibwa nga Moluddekaayi bwe yabuulira kabaka olukwe olwakolebwa Bigusani ne Teresi, ababiri ku balaawe ba kabaka abamu ku abo abaakuumanga oluggi, abaagezaako okutemula kabaka Akaswero. Awo kabaka n'abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo?” Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti, “Tewali kintu na kimu kyali kimuweereddwa.” Awo kabaka n'abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Kale Kamani yali atuuse mu luggya olw'ebweru olw'oku nnyumba ya kabaka, ng'azze okusaba kabaka amukkirize okuwanika Moluddekaayi ku kitindiro kye yali amusimbidde. Awo abaddu ba kabaka ne bamugamba nti, “Laba, Kamani ayimiridde mu luggya.” Kabaka n'ayogera nti, “Ayingire.” Awo Kamani n'ayingira. Kabaka n'amugamba nti, “Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa anaakolerwa ki?” Awo Kamani n'ayogera mu mutima gwe nti, “Ani kabaka gwe yandisanyukidde okumussaamu ekitiibwa okusinga nze?” Awo Kamani n'agamba kabaka nti, “Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, baleete ebyambalo by'obwakabaka, kabaka by'ayambala, n'embalaasi kabaka gye yeebagala eri etikkirwako engule ey'obwakabaka ku mutwe gwayo. Era bakwase ebyambalo n'embalaasi omu ku bakungu ba kabaka abasinga ekitiibwa, bambaze ebyambalo ebyo omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, era bamwebagaze embalaasi okuyita mu luguudo olw'ekibuga, era balangirire mu maaso ge nti, ‘Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.’ ” Awo kabaka n'agamba Kamani nti, “Yanguwa oddire ebyambalo n'embalaasi nga bw'oyogedde, okolere ddala bw'otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka, waleme okubulako n'ekimu ku ebyo byonna by'oyogedde.” Awo Kamani n'addira ebyambalo n'embalaasi, n'ayambaza Moluddekaayi, n'amwebagaza okuyita mu luguudo olw'ekibuga, n'alangirira mu maaso ge nti, “Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.” Awo Moluddekaayi n'akomawo ku mulyango gwa kabaka. Naye Kamani n'ayanguwa n'agenda ewuwe, ng'anakuwadde era ng'abisse ku mutwe gwe. Awo Kamani n'abuulira Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebyamubaddeko. Awo abasajja be abagezi ne Zeresi mukazi we ne bamugamba nti, “Moluddekaayi nga bw'otandise okutoowazibwa mu maaso ge, oba nga wa ku zzadde lya Bayudaaya, tojja kumusinga, naawe tolirema kugwa mu maaso ge.” Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba kabaka ne bajja, ne banguwa okutwala Kamani ku embaga Eseza gye yali afumbye. Awo kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ewa Eseza kaddulubaale. Awo kabaka n'agamba Eseza nate ku lunaku olwokubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti, “Kiki ky'osaba, Nnaabagereka Eseza, era onookiweebwa, era kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu eky'obwakabaka kinaatuukirizibwa.” Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti, “Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ayi kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange, olw'okusaba kwange, era n'obw'abantu bange olw'okwegayirira kwange. Nze n'abantu bange tutundiddwa, okuzikirizibwa, okuttibwa n'okumalibwawo ddala. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nnandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa.” Awo kabaka Akaswero n'alyoka abuuza Eseza kaddulubaale nti, “Ani, era ali ludda wa ayaŋŋaanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo?” Awo Eseza n'ayogera nti, “Omulabe era atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Awo Kamani n'atya nnyo mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale. Awo kabaka n'asituka ng'aliko ekiruyi n'ava ku mbaga ey'omwenge n'ayingira mu lusuku olw'omu lubiri; Kamani n'asigalawo okwegayiririra obulamu bwe eri Eseza Nnaabagereka; kubanga yalaba obubi kabaka bw'amuteeserezza. Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti, “N'okukwata ayagala kukwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba?” Ekigambo bwe kyava mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani. Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti, “Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono ataano (50), Kamani ky'akoledde Moluddekaayi, eyayogera ebigambo ebyawonya kabaka kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani.” Kabaka n'ayogera nti, “Mumuwanike okwo.” Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yali akoledde Moluddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana. Awo ku lunaku olwo kabaka Akaswero n'awa Eseza kaddulubaale ennyumba ya Kamani omulabe w'Abayudaaya. Awo Moluddekaayi n'ajja mu maaso ga kabaka; kubanga Eseza yali amubuulidde bwamuyita. Awo kabaka n'anaanuula empeta ye gy'aggye ku Kamani n'agiwa Moluddekaayi. Awo Eseza n'alonda Moluddekaayi okuba omukulu w'ennyumba ya Kamani. Awo Eseza n'ayogera nate olwokubiri mu maaso ga kabaka, n'avuunama awali ebigere bye n'amwegayirira ng'akaaba amaziga okuggyawo obubi bwonna Kamani Omwagaagi n'olukwe lwe yali asalidde Abayudaaya. Awo kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu. Awo Eseza n'asituka n'ayimirira mu maaso ga kabaka. N'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, era oba nga ŋŋanze mu maaso ge, n'ekigambo ekyo bw'olabanga kituufu mu maaso go, nange oba nga mmusanyusa, bawandiike ekirangiriro okumenyawo ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi ze yawandiika, okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza gonna aga kabaka. Kubanga nnyinza ntya okugumiikiriza okutunuulira obubi nga bujja ku bantu bange? Oba nnyinza ntya okugumiikiriza okutunuulira baganda bange nga babazikiriza?” Awo kabaka Akaswero n'agamba Nnaabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Laba, mpadde Eseza ennyumba ya Kamani, naye bamuwanise ku kitindiro, kubanga yateeka omukono gwe ku Bayudaaya. Era muwandiikire n'Abayudaaya, nga bwe musiima, mu linnya lya kabaka, mugisseeko akabonero n'empeta ya kabaka kubanga ekiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya kabaka era ekiteekeddwako akabonero n'empeta ya kabaka, tewali muntu ayinza okukikyusa.” Awo mu biro ebyo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi gwa Sivaani, ku lunaku lwagwo olw'abiri mu ssatu (23) era byonna ne biwandiikibwa Moluddekaayi bye yalagira eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza abaaliwo okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127), eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yali era ng'olulimi lwabwe bwe lwali. Era n'awandiika mu linnya lya kabaka Akaswero n'agissaako akabonero n'empeta ya kabaka n'aweereza ebbaluwa ezitwalibwa ababaka abeebagala embalaasi, abeebagadde ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka, ebyazaalibwa mu bisibo bya kabaka. Era mu ezo kabaka n'alagira Abayudaaya abaali mu buli kibuga okukuŋŋaana, basobole okutaasa obulamu bwabwe, era basobole okuzikiriza, okutta, n'okumalawo obuyinza bwonna obw'abantu n'essaza abaagala okubalumba, abaana baabwe abato ne bakazi baabwe, n'okutwala ebintu byabwe okuba omunyago. Ekiragiro ekyo kyali kya kukola ku lunaku lumu mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi gwa Adali. Awo ne balaalika amawanga gonna ebyaggibwa mu kiwandiiko, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, era Abayudaaya babe nga beeteekeddeteekedde olunaku olwo okuwalana eggwanga ku balabe baabwe. Awo ababaka abeebagala ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka ne bagenda, ekiragiro kya kabaka nga kibakubiriza era nga kibanguya; awo ekiragiro ne kirangirirwa mu kibuga ekikulu lw'e Susani. Awo Moluddekaayi n'afuluma mu maaso ga kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya kaniki n'ebyeru, era ng'atikkidde engule ennene eya zaabu, era ng'ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu, awo abantu mu kibuga Susani ne bakuba emizira, ne boogerera waggulu olw'essanyu. Awo Abayudaaya ne baba n'ekitangaala, ne basanyuka, ne bajaguza, era ne baba n'ekitiibwa. Awo mu buli ssaza ne mu buli kibuga, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga, Abayudaaya ne baba n'essanyu n'okujaguza, embaga n'olunaku olulungi. Kale bangi ab'omu mawanga ag'omu nsi ne bafuuka Abayudaaya; kubanga entiisa ey'Abayudaaya yali ebaguddeko. Awo mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi gwa Adali, ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu (13), ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byali binaatera okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubirira okubafugirako; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bawangula abo abaabakyawa. Awo Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonna aga kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubakola obubi; so tewaali muntu eyayinza okubaziyiza; kubanga entiisa yaabwe yali egudde ku mawanga gonna. Awo abalangira bonna abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisa ya Moluddekaayi ng'ebaguddeko. Kubanga Moluddekaayi yali mukulu mu nnyumba ya kabaka, n'ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonna; kubanga omusajja oyo Moluddekaayi yeeyongerayongeranga obukulu. Awo Abayudaaya ne batta abalabe baabwe bonna n'ekitala, ne babazikiriza okubamalawo, ne bakola nga bwe baayagala ku abo abaabakyawa. Ne mu kibuga ekikulu Susani Abayudaaya ne batta ne bazikiriza abasajja bitaano (500). Awo Palusandasa, Dalufoni, Asupasa, ne Polasa, Adaliya, Alidasa ne Palumasuta, Alisayi, Alidayi ne Vaizasa, batabani ba Kamani ekkumi, Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w'Abayudaaya ne babatta; kyokka ne batanyaga kintu kyabwe na kimu. Ku lunaku olwo omuwendo gw'abo abattirwa mu lubiri lw'e Susani ne guleetebwa mu maaso ga kabaka. Awo kabaka n'agamba Nnaabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse ne bazikirizza abasajja bitaano (500), mu kibuga ekikulu Susani ne batabani ba Kamani ekkumi (10). Kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? Era onookiweebwa, Oba kiki kye weegayirira nate? Era kinaakolebwa.” Awo Eseza n'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, Abayudaaya abali mu Susani bakkirizibwe enkya okukola ng'ekiragiro ekyaleero bwe kibadde, era ne batabani ba Kamani ekkumi (10), bawanikibwe ku kitindiro.” Awo kabaka n'alagira bakole bwe batyo; kale ne balangirira etteeka mu Susani, ne batabani ba Kamani ekkumi, ne bawanikibwa. Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi Adali, ne batta abasajja bisatu (300) mu Susani; naye ne batakwata ku munyago. Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana okutaasa obulamu bwabwe, n'okwewonya eri abalabe baabwe, ne batta ku abo abaabakyawa emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (75,000), naye ne batakwata ku munyago. Ebyo byabaawo ku lunaku olw'ekkumi n'essatu (13) olw'omwezi gwa Adali; enkeera ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'ennya (14) ne bawummula, ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako. Naye Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu (13) n'olw'ekkumi n'ennya (14), ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano (15) ne bawummula, ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako. Abayudaaya ab'omu byalo ne mu bibuga ebitaliiko bbugwe kye baava bafuula olunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi gwa Adali olunaku olw'okusanyukirako n'okuliirako embaga era olunaku olulungi era olw'okuweerezaganirako ebirabo. Awo Moluddekaayi n'abiwandiika ebyo, n'aweereza Abayudaaya bonna abaali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala. Era n'abalagira okukwatanga olunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi gwa Adali, n'olunaku lwagwo olw'ekkumi n'ettaano (15), buli mwaka, nga ze nnaku Abayudaaya kwe baafunira okuwummula ku abalabe baabwe, n'omwezi ogw'abafuukira ogw'essanyu okuva mu buyinike, era olunaku olulungi okuva mu kunakuwala; bazifuulenga ennaku ez'okuliirangako embaga n'ez'okusanyukirangako n'ez'okuweerezaganirangako ebirabo n'ez'okuweererezangako abaavu ebirabo Awo Abayudaaya ne basuubiza okukolanga nga bwe baali batandise, era nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira; kubanga Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonna yali ateesezza okuzikiriza Abayudaaya, era yali akubye Puli, bwe bululu, okubamalawo n'okubazikiriza. Naye Eseza bwe yagenda mu maaso ga kabaka, kabaka n'awandiika ebbaluwa n'alagira nti olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro. Ennaku ezo kye baava baziyita Pulimu ng'erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw'ebigambo byonna ebyali mu bbaluwa eno n'olw'ebyo bye baalaba olw'ensonga eno, n'olw'ebyo ebyababaako, Abayudaaya kye baava balagira ne basuubiza era ne basuubiriza n'ezzadde lyabwe n'abo bonna abaneegattanga nabo, kireme okuggwaawo, okukwatanga ennaku ezo zombi ng'ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng'ebiro byazo bwe byali ebyateekebwawo buli mwaka. Era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo mu mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okwerabirwa eri ezzadde lyabwe. Awo Nnaabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n'obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyokubiri eya Pulimu. N'aweereza Abayudaaya bonna ebbaluwa, mu masaza ekikumi mu abiri mu musanvu (127) ag'obwakabaka bwa Akaswero, nga zirimu ebigambo eby'emirembe n'amazima, okunyweza ennaku ezo eza Pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe. Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu; ne kiwandiikibwa mu kitabo. Awo kabaka Akaswero n'asalira ensi omusolo, n'ebizinga eby'omu nnyanja. Era ebikolwa byonna eby'obuyinza bwe n'amaanyi ge, era n'ebyo ebitegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi bwe bwenkana, kabaka bwe yamukuza, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyo mumirembe gya bassekabaka b'e Bumeedi n'e Buperusi? Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya ye yaddiriranga kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era nga akkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng'ayagaliza abantu be obulamu obulungi, era ng'abuulira ezzadde lye lyonna emirembe. Waaliwo omusajja mu nsi Uzzi, erinnya lye Yobu. Omusajja eyatuukirira, owa mazima, ng'atya Katonda, era yeewalanga okukola obubi. Yalina abaana ab'obulenzi musanvu, n'ab'obuwala basatu. Yalina endiga kasanvu (7,000), eŋŋamira enkumi ssatu (3,000), emigogo gy'ente bitaano (500), n'endogoyi enkazi bitaano (500), n'abaweereza bangi nnyo ddala. Omusajja ye yali asinga obugagga mu bantu bonna ab'ebuvanjuba. Batabani be baagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli omu ku bo, buli muntu ku lunaku lwe; nga batumya bannyinaabwe abasatu, okujja okulya n'okunywa nabo. Awo olwatuuka ennaku z'embaga yaabwe bwe zaggwanga, Yobu n'abatumyanga n'abatukuzanga. Yagolokokanga mu makya, n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa ku buli omu, kubanga Yobu yayogeranga nti, “Oboolyawo batabani bange boonoonye, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga olutata. Awo olunaku lwali lumu, abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo. Mukama n'abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Awo Setaani n'addamu Mukama nti, “Nva kuyitaayita mu nsi n'okutambulatambula omwo eruuyi n'eruuyi.” Mukama n'abuuza Setaani nti, “Olowoozezza ku muweereza wange Yobu? Kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, anzisaamu ekitiibwa, era eyeewala okukola ebibi.” Awo Setaani n'addamu Mukama nti, “Yobu atiira bwereere Katonda? Tomusizaako lukomera okumwetooloola, ye n'ennyumba ye, ne byonna by'alina? Owadde omukisa byonna byakola, n'ebintu bye byaze mu nsi. Naye kaakano golola omukono gwo omuggyeko byonna by'alina, ajja ku kwegaanira mu maaso go.” Mukama n'agamba Setaani nti, “Kale byonna by'alina biri mu buyinza bwo, kyokka ye yennyini tomukolako kabi.” Awo Setaani n'ava mu maaso ga Mukama. Awo olunaku lwali lumu batabani be ne bawala, be bwe baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, omubaka n'ajja eri Yobu n'agamba nti, “Ente bwe zibadde nga zirima, nga n'endogoyi ziziriraanye, nga zirya, Abaseba ne bazizinda, ne bazinyaga. Basse abaddu bo ne kitala, era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzijja okukubuulira.” Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'amugamba nti, “Omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, era gwokezza endiga n'abaddu ne gubazikiriza. Era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, naye n'amugamba nti, “Abakaludaaya, nga beegabanyizzamu ebibinja bisatu, bazinze ŋŋamira, era bazitutte. Basse abaddu ne kitala, nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija ” Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, omuyaga ogw'amaanyi ne guva mu ddungu, ne gukuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwako, era bafudde, nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” Awo Yobu n'asituka n'ayuza ekyambalo kye, n'amwa omutwe, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Katonda. n'agamba nti, “Nnava mu lubuto lwa mmange, nga ndi mwereere, era ndifa nga ndi mwereere. Mukama ye yampa, era Mukama ye aggyeewo. Erinnya lya Mukama lyebazibwe.” Mu ebyo byonna Yobu teyayonoona, era teyanenya Katonda. Awo olunaku lwali lumu nate, abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama. Mukama n'abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n'addamu Mukama nti, “Nva kuyitaayita mu nsi n'okutambulatambula omwo wano ne wali.” Mukama n'agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira, ow'amazima, anzisaamu ekitiibwa, era eyeewala okukola ebibi. Era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wanzikirizisa, omuzikiririze obwereere.” Setaani n'addamu Mukama nti, “Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe. Naye kaakano golola omukono gwo, okwate ku magumba ge ne ku mubiri gwe, ajja kukuvumira mu maaso go.” Mukama n'agamba Setaani nti, “Laba, ali mu buyinza bwo, kyokka mulekere obulamu bwe.” Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'agenda n'alwaza Yobu amayute amabi ennyo omubiri gwonna, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere. Yobu n'akwatanga oluggyo okweyaguza. N'atuulanga mu vvu. Awo mukazi we n'amugamba nti, “Okyanywezezza obutayonoona bwo? weegaane Katonda, ofe.” Naye Yobu n'amugamba nti, “Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! tunaaweebwanga ebirungi byokka okuva ewa Katonda ne tutaweebwa bibi?” Mu ebyo byonna Yobu teyayogera bubi ku Katonda. Awo mikwano gya Yobu abasatu: Erifaazi Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi, bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne basalawo buli omu okuva ewuwe, ne bajja okumukaabirako n'okumukubagiza. Awo bwe baamulengera nga bakyali wala ne batamutegeera, Ne batema emiranga, ne bakaaba, buli omu n'ayuza ekyambalo kye, ne beeyiira enfuufu ku mitwe gyabwe, era nga bwe bagimansa mu bbanga. Awo ne batuula wamu naye ku ttaka okumala ennaku musanvu, emisana n'ekiro, nga tewali amugamba kigambo: kubanga baalaba okubonaabona kwe yalimu nga kungi nnyo ddala. Awo nga bakyali mukasirikiriro ako ak'enaku, Yobu nga ali n'emikwano gye, Yobu n'atandika okwogera, n'akolimira olunaku lwe yazaalirwako. Yobu n'agamba nti, “Olunaku luzikirire lwe nnazaalirwako, N'ekiro ekyagamba nti, ‘Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto.’ Olunaku olwo lube ekizikiza; Katonda mu ggulu aleme okulujjukira, Ne njuba ereme okwakirako. Ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte biruyite olwabyo. Ekire kirubutikire, Byonna ebiddugaza obudde birutiise. Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikibutikire, Era kisangulwe mu nnaku ez'omu mwaka; Kireme kubalibwa mu myezi. Ddala, ekiro ekyo kibe kigumba; Kireme kubeeramu kusanyuka kwonna. Kikolimirwe abo abakolimira obudde, Abeeteeseteese okusaggula goonya. Emmunyeenye ez'amakya gaakyo zibe kizikiza: Kisubire ekitangaala, naye kibule, Era kireme okulaba ku mmambya. Kubanga tekyafuula mmange mugumba, Ne kindetera okulaba obuyinike. Lwaki saafiira mu lubuto? Lwaki ssaafa nga nnakazaalibwa? Mmange yanderera ki ku maviivi? Lwaki yannyonsa amabeere? Kubanga bwe nnandifudde nnandisirise, Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde: Nga bassekabaka n'abakungu b'ensi, Abeezimbira embiri mu matongo; Oba nandyebase wamu n'abalangira abajjuza, Ennyumba zaabwe zaabu ne ffeeza, Oba lwaki ssagibwawo ng'omwana omusowole, Oba ng'omwana azaalibwa ng'afudde atalaba ku kitangaala n'akatono? Eyo mu ntaana ababi bakoma okuteganya abantu, Era eyo abakoowu gye bawummulira. Eyo abasibe gye bafunira emirembe, Tebawulira ddoboozi lya mukozesa. Omuto n'omukulu bali eyo; N'omuddu tafugibwa mukama we. Alaba obuyinike aweerwa ki ekitangaala? Ali mu buyinike abeerera ki omulamu? Waliwo abeegomba okufa, naye ne kutajja; Ne bakunoonya nga abasima obugagga obukwekeddwa. Basanyuka ennyo nnyini bwe bafa, Bajaguza, bwe bateekebwa mu ntaana. Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana, Era Katonda amukolerako ki olukomera? Kubanga okusinda ye linga emmere yange, N'okuwuluguma kwange kulinga amazzi agafukibwa. Kubanga kye ntya kye kinzijira, N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi. Sirina mirembe, era siwummula, Wabula obuyinike bwe bunzijira.” Awo Erifaazi Omutemani n'addamu Yobu nti, “Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga? Naye ani ayinza okusirika obusirisi naatabaako kyayogera? Wayigirizanga bangi, Era wanywezanga emikono eminafu. Ebigambo byo byawaniriranga oyo eyeesittala, Era byamuwanga amaanyi n'anywera naatagwa. Naye kaakano kituuse ku gwe, n'ozirika; Kikukuteko, ne weeraliikirira. Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo, N'obulamu bwo obulongoofu, tebukuwa ssuubi? Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali asaanyewo nga tazzizza musango? Oba walaba wa omutuukirivu ng'azikirizibwa? Ndabye, abo abakabala obujeemu, Ne basiga okwonoona, era ebyo bye bakungula. Katonda bwassiza omukka nga bazikirira, Nga kibuyaga, Katonda abamalawo mu busungu bwe. Okuwuluguma kw'empologoma, n'eddoboozi ly'empologoma enkambwe, N'amannyo g'empologoma ento gamenyebwa. Empologoma enkulu bw'efa ng'omuyiggo gugibuze, Olwo n'abaana baayo nga basaasaana. Ekigambo kyandeeterwa mu kaama, N'okutu kwange kwa wulira kaama. Mu kulowooza okw'omu kirooto okw'ekiro, Otulo otungi mwe tukwatira abantu, Entiisa n'okukankana ne binkwata. Amagumba gange gonna ne ganyeenyezebwa. Empewo ne yita mu maaso gange; Enviiri ne zinva ne ku mutwe gwange. N'ayimirira buyimirizi, naye nga siyinza kwetegereza kye ndaba, Ekifaananyi kyali mu maaso gange: nga wonna kasirikiriro, ne mpulira eddoboozi nti: Omuntu afa, alisinga Katonda obutuukirivu? Omuntu aliba mulongoofu n'asinga eyamukola? Katonda teyeesiga baddu be, Ne bamalayika be abanenya olw'ensobi zaabwe. Talisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez'ettala, Omusingi gwabwe guli mu nfuufu, Ababetentebwa okusinga n'ekiwojjolo! Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi: Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo. Balifa tebannaba bagezi. Ebintu byabwe abalala balibitwala.” “Koowoola nno, ani anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira akuyambe? Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru, N'obuggya butta atalina magezi. Nnalaba omusirusiru nga ye nyweza, Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu. Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, Era tewaba abawonya. Abayala balya byakungula, Baggyayo ne biri eyo mu maggwa, Ab'omululu beegomba obugagga bwe. Kubanga obuyinike tebuva mu nfuufu, Ne nnaku teva mu ttaka; Naye abantu bazaalirwa kulaba obuyinike, Ng'ensasi bwe zimansukira mu bbanga. Singa nze ggwe, nnandinoonyeza Katonda, Era oyo gwe nandyanjulidde ensonga yange: Akola ebikulu ebitategeerekeka, N'eby'amagero ebitabalika: Atonnyesa enkuba ku nsi, N'afukirira amazzi ku nnimiro: Agulumiza abeetoowaza, N'abo abakungubaga n'abawa essanyu. Affaffaganya enkwe ez'abakalabakalaba; Ne batayinza kutuukiriza bye bategeka. Akwasa abagezi mu bugezigezi bwabwe. Era akomya mangu okuteesa kwa b'enkwe. Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro. Katonda awonya abanaku okuttibwa, Alokola abali mu bwetaavu okuva mukunyigirizibwa ab'amaanyi. Olwo abaavu ne baba n'essuubi, Ababi ne babunira. Laba, aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kukangavvulwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna. Kubanga ye alumya, era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze ze ziwonya. Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, ku gw'omusanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako. Mu njala anaakuwonyanga okufa. Ne mu ntalo anaakuwonyanga okuttibwa ekitala. Anaakuwonyanga abakuwaayiriza. Era tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga. Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; Era tootyenga nsolo z'omu ttale. Kubanga mu nnimiro yo temuubeenga mayinja; N'ensolo ez'omu nsiko teziikulumbenga. Oneekakasanga nti mu nnyumba oli mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo nga tekuliiko ebuze. Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo lya kwala. Lyeyongere ng'omuddo ogw'oku ttale. Olituuka mu ntaana yo ng'owangadde emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kireetebwa okuwuulwa. Ebyo twabyekenneenya, ne tulaba nga bya mazima. Biwulire, obimanye olyoke obeere bulungi.” Yobu n'ayanukula n'agamba nti, “Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku yange n'eteekebwa ku minzaani wamu, Zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja, Ebigambo byange kye kyenvudde mbyanguyiriza. Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna bunnyingidde mu mubiri. N'obusagwa bwabwo bumbunye. Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange. Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo? Ekitaliimu nsa kiriika nga tokirunzeemu munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma? Emmeeme yange teyagala ku biryako, Biriŋŋaanga eby'okulya eby'omuzizo gye ndi. Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba! Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo! Ekyo kyandinkubagiza, Olwo nandijaganyizza, olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu. Amaanyi ge nnina galuwa nnyongere okuba omulamu? Ye obulamu bungasa ki obutalina ssuubi? Ndi mugumu nga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo? Sikyalina maanyi mu nze. Sikyalina kye nsobola okukola. Ali mu buzibu yeetaaga mikwano gye okumukola eby'ekisa, Ne bw'aba alese Omuyinza w'ebintu byonna. Baganda bange mu nnimbye ng'akagga akateesigwa. Ng'obugga obukalirakalira. Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka: Buli lwe bubuguma, nga bukalira, Omusana olwakako, tobulabako. Abatambuze bakyama nga babunoonya. Batambulatambula mu ddungu ne bazikirira. Abatambuze b'e Tema baabutunuulira. N'abatambuze b'e Seeba baabulinamu essuubi. Baaswala kubanga baabwesigira bwereere. Bwe baabutuukako ne basoberwa. Nammwe bwe mutyo bwe munfukidde: Mulaba ndi mu buzibu, ne mutya. Mbagambye nti mumpe ekirabo? Oba nti Mutoole ku byammwe muweeyo enguzi ku lwange? Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi? Kansirike, mumpabule; Muntegeeze kye nnasobya. Ebigambo ebituufu bimatiza. Naye empaka zammwe zigasa ki? Mulowooza bye njogera tebiriimu nsa, Era njogedde nga sirina ssuubi? Mwandikubidde ne mulekwa akalulu okumufuula omuddu, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba. Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe. Muddemu mwerowooze temunsibako kibi. Mbeegayiridde mwerowooze nate, ensonga yange ntuufu. Waliwo ekitali kituufu kye njogedde? Siyinza kwawula kirungi na kibi?” “Obulamu bw'omuntu ku nsi bwa kufaabiina. Bwakukuluusana ng'obw'akolera empeera. Ng'omuddu eyeegomba okubeera mu kisiikirize, Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye: Bwe ntyo nange bwe nnaweebwa emyezi egitangasa, N'ebiseera eby'ekiro ebyanteekerwawo bya buyinike gyendi. Bwe ngalamira ne nneebuuza nti: Bunaakya ddi? ng'ekiro tekigwako, Era nsula nkulungutana okukeesa obudde. Omubiri gwange gujjudde envunyu n'obujama. Olususu lwange lufukuuka ne lufulumya amasira. Ennaku zange zidduka okusinga n'ewuzi z'omutunzi w'olugoye ku kyalaani. Era ziggwaako nga tewali ssuubi. Jjukira ng'obulamu bwange mukka, Amaaso gange tegakyaddayo kulaba birungi. Eriiso erintunulako teririddayo kundabako. Amaaso galinnoonya, naye nga siriiwo. Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula, Bw'atyo n'oyo akka emagombe tagenda kwambuka aveeyo. Takomawo nate mu nnyumba ye, N'abantu be yabeeranga nabo bamwerabira. Kyennaava nange siisirika, Kaanjogerere mu bubalagaze bw'omwoyo gwange; Nga nneemulugunya lw'obuyinike obundi ku mwoyo. Ndi nnyanja, oba kikulejje eky'omu nnyanja, N'okussaako n'onzisaako abankuuma? Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa, N'obuliri bwange bunerabize okwemulugunya kwange; Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto, N'onkanga n'okwolesebwa: Emmeeme yange neyeegomba okutugibwa, Nfe okusinga okuba amagumba gano. Ntamiddwa obulamu bwange; siribeerawo ennaku zonna. Ndeka; kubanga obulamu bwange mukka bukka. Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza, Era ggwe okumussaako omwoyo gwo? N'okumujjira buli nkya, N'omugeza buli kaseera? Olituusa wa obutanzigyako maaso, N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange? Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu? Kiki ekyakunteesaawo okuba eky'okunyigirizakwo, Lwaki nfuuse omugugu gy'oli? Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano ngenda kufa ngalamire mu nfuufu, Naawe bw'olinnoonya, ndiba siikyaliwo.” Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti: “Olituusa wa okwogera ebigambo ebyo? Era ebigambo eby'omu kamwa ko birituusa wa okuba ng'empewo ey'amaanyi? Katonda abuzabuza amazima? Oba Omuyinza w'ebintu byonna asaliriza? Abaana bo baayonoona ne bamunyiiza, Kyeyava ababonereza olw'okusobya kwabwe. Bw'onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda, Ne weegayirira Omuyinza w'ebintu byonna; N'oba omulongoofu era owa mazima, Taaleme kusituka n'akuyamba, N'addamu okuwa amakaago omukisa. Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono, Naye enkomerero yandibadde ya maanyi nnyo. Nkwegayiridde weebuuze ku b'emirembe egy'edda, Weetegereze ebyo bajjajjaabwe bye baazuula. Kubanga ffe tuli ba jjo, tetuliiko kye tumanyi, Kubanga ennaku zaffe ze tumala ku nsi ziringa kisiikirize. Abo ab'edda tebakuyigirize ne bakutegeeza, Ne bakubuulira bo bye bamanyi? Ekitoogo kiyinza okukula awatali lutobazzi? N'olumuli luyinza okumera awatali mazzi? Amazzi bwe gakalira ne bwe luba telutemeddwa, Lwe lusooka omuddo omulala gwonna okuwotoka. Bwe batyo bwe baba bonna abeerabira Katonda, N'oyo atatya Katonda tabeenga na ssuubi. Kye yeesiga kikutuka nga wuzi, N'ekyo ekimuyinula kiringa wuzi za nnabbubi. Yeesigama ku nnyumba ye, naye n'etemuwanirira. Aginywererako, naye teegumenga. Alinga ekimera ekifukirirwa amazzi ne kitojjera. N'amatabi ge galanda okubuna mu nnimiro. Emirandira gye gisensera mu ntuumu z'amayinja, Ne gye kwata ku buli jjinja. Bw'anaazikirizibwanga okuva mu kifo kye, Kinaamwegaananga nga kyogera nti, ‘Sikulabangako.’ N'essanyu ly'omubi bwe liba. Mu kifo kye muddamu abalala. Katonda talekerera muntu ataliiko musango, So taawanirira abo abakola ebibi. Bw'alimala alijjuza obuseko, Era oliyogerera waggulu. Abakukyawa baliswala, N'eweema ey'ababi erisaanyizibwawo.” Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: “Mazima mmanyi nga bwe kityo bwe kiri. Naye omuntu ayinza okuwoza ne Katonda n'asinga? Bw'ayagala okuwoza naye, Katonda bwamubuuza ebibuuzo olukumi (1,000), Tayinza kumuddamu kigambo na kimu. Katonda mugezi, era wa maanyi, Ani amuwakanya n'alaba omukisa? Asiguukulula ensozi nga talina gw'abuulidde, N'azisaanyawo mu obusungu bwe. Katonda aleeta okukankana kw'ensi, Empagi zaayo ne zikankana. Alagira enjuba n'etevaayo; N'emmunyeenye n'azibikkako ne zitayaka. Yabamba eggulu yekka, Era yekka yakkakkanya amayengo g'ennyanja. Yawanga emmunyeenye: Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga, N'emmunyeenye ez'obukiikaddyo. Akola ebikulu ebitategeerekeka, N'eby'amagero ebitabalika. Kale ampitako, ne ssimulaba. Ne yeyongerayo mu maaso, kyokka ne simwetegereza. Bw'ayagala okutwala ekintu, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamubuuza nti, ‘Okola ki?’ Obusungu bwa Katonda tebukoma, Abeteenta abalabe be, abayambi ba Lakabu. Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Nnyinza okufuna ebigambo okuwoza naye? Newakubadde nze sirina musango, siyinza kwewolereza. Wabula okwegayirira Katonda, omulamuzi wange ansaasire. Ne bwe nandimukoowodde naye n'anziramu, Sandikkiriza nti awulidde eddoboozi lyange. Kubanga ankubisa kibuyaga, N'annyongera ebiwundu awatali nsonga. Taŋŋanya kussa ku mukka, Naye anjijuza obubalagaze. Bwe kuba kukozesa maanyi, ye agansinza. Bwe kuba kuwoza musango, ani ananteekerawo obudde obw'okuguwulira? Newakubadde nga siriiko musango, byenjogera binsaliza okunsinga. Newakubadde nga sirina musango, ajja kulaga nga bwe ndi omukyamu. Nze siriiko musango, sikyerowoozaako, Naye nneetamiddwa obulamu bwange. Bwonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti, Azikiriza abataliiko musango, n'abakola ebibi. Akabi bwe kagwa ne kattirawo abantu, Akudaalira abataliiko musango, ababonaabona. Katonda yawaayo ensi mu mikono gy'ababi Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si Katonda, kale ani? Ennaku zange ziri ku misinde okusinga n'omuddusi, Ziggwaako nga sizifunyeemu kalungi konna. Ziyise ng'amaato ag'embiro, Ng'empungu ekka ku muyiggo. Bwe ŋŋamba nti ka nneerabira okwemulugunya kwange, Mmweenyeeko nsanyuke, Awo ne nzijirwa okutya obuyinike bwange bwonna, Kubanga mmanyi nga toligamba nti siriiko musango. Omusango gulinsinga; Kale nteganira ki obwereere? Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Ne ntukuza engalo zange ne sabbuuni, Era naye olinsuula mu kinnya ekijama, N'engoye zange ne zintamwa. Kubanga Katonda si muntu nga nze, nze okumuddamu, Newakubadde okuwoza naye. Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Anaatuwozesa n'atusalirawo. Katonda alekere awo okumbonyaabonya, Era aleme okunkanga n'okuntiisa. Olwo nnyinza okwogera nga sitya, Naye si bwe ntyo bwe ndi.” “Nneetamiddwa obulamu bwange! Naafukumula okwemulugunya kwange, Njatule ennaku endi ku mwoyo. N'agamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga; Naye ntegeeza ky'onvunaana. Olaba nga kirungi ggwe okukambuwala, N'okunyooma gwe bye watonda, Naye n'osanyukira okuteesa kw'ababi? Gwe olina amaaso nga ag'omuntu? Ggwe olaba ng'omuntu bwa laba? Ennaku zo ziriŋŋaanga ez'abantu? Oba emyaka gyo giri ng'egy'omuntu? Lwaki oyagala okubuuliriza ku bibi byange, N'okunoonyereza ku kwonoona kwange? Newakubadde ng'omanyi nga siriiko musango, So tewali n'omu ayinza okumponya mu mukono gwo? Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola Ate kaakano onkyukidde okunzikiriza. Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba mu bbumba, Era onoonsekula onzizeeyo nate mu nfuufu? Tewanjiwa ng'amata mu lubuto lwa mmange, N'ommumba ng'ekitole ky'omuzigo? Wannyambaza ennyama n'olususu, N'ongatta wamu n'amagumba n'ebinywa. Wampa obulamu n'okuganja, Okufaayo kwo gyendi kwe kwakuuma omwoyo gwange. Naye waliwo bye wakweka nga bya kyama. Ekyo bw'otyo bwe wakyagala. Bwe nnyonoona, oneetegereza, Era tolinziggyako butali butuukirivu bwange. Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, sisobola kuyimusa mutwe gwange, Mba nzijudde obuswavu. Nga ntunuulira okubonaabona kwange. Era bwe negulumiza olw'ekyo kye mba nkoze, onjigga ng'empologoma. Era n'okola eby'amagero okunnumya. Onnumba buggya okumbonyaabonya, Weeyongera okunyiigira, Oyongera okuteekateeka okunnumba nate. Kale lwaki waleka ne nzaalibwa? Nnandifudde nga tewannaabaawo n'omu andabako. Nnandibadde ng'atabangawo; Okuva mu lubuto, bandiziikiddewo. Ennaku ez'obulamu bwange si ntono? Kale lekera awo, Ndeka nsanyukemu katono, Nga sinnagenda eyo gye sityenga kukomawo, Ensi ey'ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte. Ensi ey'ekisiikirize n'obutabangufu, Ensi ey'ekisiikirize eky'okufa awatali kuteekateeka, Era ekitangaala kyayo kiri ng'ekizikiza.” Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'agamba nti: Ebigambo ebingi bwe bityo tebisaanye kuddibwamu? Okwogera ebingi kwe kwejjeerezesa omuntu? Olowooza okwenyumiriza kwo kunaasirisa abantu? Era olowooza bw'okudaala bw'otyo tewaabe akuwemuukiriza? Kubanga ogamba nti, “by'oyogera bye bituufu, Era nti oli mulongoofu mu maaso ga Katonda.” Naye nnandyagadde Katonda, Ayogere naawe butereevu. Akubuulire ebyama by'amagezi, Ebikisiddwa, ebitamanyika kuggwaayo, Kale tegeera nga Katonda akubonereza katono okusinga bw'osaanira. Oyinza okunoonyereza ebifa ku Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna n'omumalayo? Bigulumivu okusinga eggulu. oyinza kukola ki? Bikka wansi okusinga amagombe, oyinza otya okubimanya? Bw'obipima bisinga ensi obunene, Era bisinga ennyanja obugazi. Katonda bw'ajja n'akusiba, N'akuleeta okusalirwa omusango, ani ayinza okumuziyiza? Kubanga Katonda amanyi abantu abataliiko kye bagasa. Era alaba n'obutali butuukirivu bwabwe bwonna. Naye abantu abasiru balitandika okutegeera, Bwewalizaalibwayo entulege ey'okufugibwa omuntu. Bw'onooteekateekanga obulungi omutima gwo, Onoogololera emikono gyo eri Katonda. Bw'oba nga olina ebibi by'okola, bireke, So n'obutali butuukirivu bulemenga okubeera mu nnyumba yo. Kale onooyimusanga maaso go nga tolina musango. Era onoobanga n'emirembe nga tolina ky'otya. Kubanga oneerabiranga ennaku ze walaba; Onoozijjukiranga ng'amazzi agakulukuse ne gagenda. N'obulamu bwo bulyakaayakana okusinga omusana ogw'omuttuntu. Ne kiseera kya bwo obw'ekizikiza, bunaabanga ekitangaala eky'oku makya. Naawe onoobanga n'emirembe olw'okuba n'essuubi. Katonda anaakukuumanga n'owummula nga tolina ky'otya. Era onoogalamiranga so tewaabenga akutiisa, Era bangi balijja gy'oli okubayamba. Naye ababi banaamagamaganga, Ne babulwa n'obuddukiro, Essuubi lyabwe liri mu kufa. Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: Mazima ddala mmwe muli bantu buntu, Era amagezi galifiira wamu nammwe. Naye nange ntegeera, so si mmwe mwekka, Mmwe temunsinga. Ani atamanyi bigambo ebyo bye mwogerako? Mikwano gyange ginsekerera, Nze eyasabanga Katonda n'anziramu, Sirina kibi kye nkoze, naye nsekererwa abantu. Mmwe muli bulungi, kyokka munduulira nze, Oyo ali mu buzibu ate mumwongerako buzibu. Amaka g'abanyazi gaba bulungi, N'abo abanyiiza Katonda babeera mu mirembe, Amaanyi gaabwe, ye katonda waabwe gwe beesiga. Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza, N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira. Oba yogera n'ebimera, binaakuyigiriza, N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola. Kitonde ki ekitamanyi, Mukama yaleese bino byonna? Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw'oyo, N'omukka gw'abantu bonna. Omuntu bwawuulira tayawulamu bituufu, n'abulimba, Nga bw'alya emmere ayawulamu ewooma n'etawooma? Amagezi gaba na bakadde, N'okutegeera kuba mu kuwangaala emyaka emingi. Katonda ye alina amagezi n'amaanyi, Yalina entegeka n'okutegeera. Ekyo kya menya, tekiyinzika kuzimbibwa nate, Katonda gw'aggalira, tewali amuggulira. Bw'aziyiza enkuba okutonnya, wabaawo ekyeya. bw'agireka n'etonnya, amataba ne gabiika ensi. Katonda wa maanyi, era omuwanguzi. Alimbibwa n'alimba bali mu buyinza bwe. Aggyawo amagezi g'abafuzi, N'abalamuzi abafuula abasirusiru. Ba kabaka abaggyako obuyinza, Era abafuula abaddu. Atoowaza ba bakabona, Era amegga ab'amaanyi. Asirisa abo abantu be beesiga, N'abakadde abaggyako okutegeera kwabwe. Aleeta okunyoomebwa ku balangira, Era anaafuya ab'amaanyi. Ayolesa eby'obuziba ng'abiggya mu kizikiza, Era aleeta ekitangaala mu kizikiza ekikutte. Agulumiza amawanga, era agazikiriza. Agafuula ag'amaanyi, ate n'agasaanyawo. Abafuzi b'abantu ab'omu nsi abafuula abasiru, N'ababungeeseza eyo mu ddungu awatali kkubo. Bawammantira mu kizikiza ekikutte ennyo, Era abatagazza ng'omutamiivu. Kale ebyo byonna nnabiraba, Era nnabiwulira dda ne mbitegeera. Bye mumanyi era nange mbimanyi, Mmwe temunsinga. Mazima njagala okwogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Njagala okwanjulira Katonda ensonga yange. Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abatasobola kuwonya. Singa musirikidde ddala! Lwe mwandiraze bwe mulina amagezi. Muwulirize kye ŋŋamba, Mutege amatu muwulirize empoza yange. Munaawolereza Katonda nga mwogera ebitali bituufu, Era nga muleeta eby'obulimba? Munaasaliriza ku lulwe? Munaawolereza Katonda? Mulowooza munaaba bulungi singa Katonda abakebera? Munaamulimba ng'abantu bwe balimbalimba bannaabwe? Taaleme kubanenya, Ne bwe munaakweka okusaliriza kwammwe. Ekitiibwa kye tekiibatise, N'ensisi ye n'ebagwako? Engero zammwe tezigasa: ziri nga vvu. Ebigambo byammwe bimetentuka nga bbumba. Musirike, mundeke njogere, Ebinanzijira, binzijire. Obulamu bwange sibutwala nga kintu, Ka nneeveemu mpeeyo obulamu bwange! Katonda anzite, sikyalina kye nsuubira. Naye nja kuwoleza ensonga zange mu maaso ge. Era ekyo kye kinandokola, Kubanga omusajja atatya Katonda tayinza kuyimirira Muwulirize ebigambo byange, Mufumiitirize kw'ebyo bye njogera. Maze okusengeka empoza yange, Mmanyi nja kwejjerezebwa. Ani aneesowolayo okunnumiriza omusango? Bwabayo kaakano, n'asirika era nfe. Mpaayo ebintu bibiri byokka, Olwo nneme okukwekweka. Nzigyako omukono gwo ogumbonereza, Era lekerawo okunkanga n'okuntiisa. Nkoowoola nange nnaayitaba, Oba leka njogere, naawe onziremu. Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange bye biruwa? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange. Lwaki oneekweka, N'ompita omulabe wo? Onootiisa nze akakoola akatwalibwa empewo? Era onooyigganya nze akasasiro akakaze? Ompandiiseko ebigambo ebikaawa, Era onvunaana okwonoona okw'omu buto bwange. Osiba ebigere byange mu nvuba, era olamba buli we mpita, Olondoola ebigere byange yonna gye biyita. Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivunda ne kiggwaawo, Oba ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje. Omuntu azaalibwa omukazi, Ennaku ziba ntono, era nga za buyinike. Amulisa ng'ekimuli ate n'awotoka, Abulawo ng'ekisiikirize, era tabeererawo ddala. Katonda, ofaayo nnyo okuntunuulira? Oba okundeeta mu maaso go onsalire omusango? Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali kirongoofu? tewali n'omu. Kubanga ennaku omuntu za wangaala wazisalawo dda, Wamugerekera n'omuwendo gw'emyezi gye, Era wa mupimira n'ekiseera ky'atayinza kusukkako. Kale muggyeeko amaaso go awummuleko, Alyoke amaleko olunaku lwe ng'omupakasi akolera empeera. Wabaawo essuubi omuti bwe gutemebwa, Kubanga ku kikonge kyagwo kumerako ettabi eddala. Emirandira gyagwo newakubadde nga gikaddiyira mu ttaka, N'ekikonge kyagwo ne kivundira mu ttaka, Naye bwe gufuna amazzi, Gusibuka ne guleeta amatabi ng'ekisimbe ekiggya. Naye omuntu afa n'aggweeramu ddala obulamu. Bw'assa ogw'enkomerero, kale aba akyali ludda wa? Ng'ennyanja bw'eggwamu amazzi, Era n'omugga nga bwe gukalira ne guggwaawo, Bw'atyo n'omuntu afa n'agalamira obutayimuka. Ng'eggulu likyali mu bbanga talizuukuka n'akatono. Talizuukusibwa mu tulo twe. Singa onkwese emagombe, n'onkwekwa eyo, okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo. Era n'onteekerawo ekiseera, n'onjijukira! Omuntu bw'afa aliddamu okuba omulamu nate? Nnandirindiridde ekiseera kyange kyonna, Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze. Wandimpise, nange nandikuyitabye, N'osanyukira nze ekitonde kyo. N'olabirira buli kigere kye ntambula, Naye n'ototunuulira kwonoona kwange. Okusobya kwange kulisibirwa mu nsawo, Era olibikkako ebisobyo byange. Ensozi zigwa ne ziseebengerera, N'olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo. Amazzi gaggwereza amayinja, Ne mukoka akuluggusa ettaka. Naawe bw'otyo bw'ozikiriza essuubi ly'omuntu. Omusinza amaanyi n'omuggyirawo ddala. n'okyusa endabika ye mu kufa. Batabani be batuuka ku kitiibwa, ye nga takimanyi, Era bwe batoowazibwa, tategeera bwe bali. Awulira obulumi mu mubiri gwe, Naanakuwala mu mmeeme ye. Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'agamba nti: “Omuntu ow'amagezi taddamu na bigambo bitalina makulu, Tayogera bigambo biri nga mpewo buwewo? Teri muntu mugezi awalaza mpaka nga gwe bw'okola, Ayogera ebigambo ebitayinza kuvaamu kalungi. Ebigambo byo biyinza okuleetera abantu obutatya Katonda, Ne bibaziyiza n'okumusinza. Kubanga by'oyogera biraga obutali butuukirivu bwo. By'oyogera byonna bya bulimba. Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusinga, so si nze. Ebigambo byo gwe bye bikusingisa omusango. Ggwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ensozi tezinnabaawo? Wali owuliddeko Katonda byateesa mu kyama? Gwe wekka alina amagezi? Kiki ky'omanyi ffe kye tutamanyi? Biki by'otegeera ffe bye tutageera? Abameze envi n'abakadde ennyo tuli nabo, Abasinga ennyo kitaawo obukadde. Okubudaabuda kwa Katonda olowooza kutono, tekukumala, Oba ebigambo eby'obuwombeefu bye twogedde naawe? Lwaki omutima gwo gukutunduga? Lwaki otunuuza busungu? N'okusunguwala n'osunguwalira Katonda? N'oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko. Omuntu yani okubeera omulongoofu? Omuntu azaalibwa omukazi ayinza okubeera omutuukirivu? Olaba Katonda teyeesiga bamalayika be! N'eggulu si ddongoofu mu maaso ge. Olwo kiri kitya eri omuntu omwonoonefu era omugwagwa, Omuntu anywa obutali butuukirivu ng'amazzi! Kankubikkulire, mpuliriza, Nkubuulire bye ndabye. Nakubuulira ab'amagezi bye boogera, Bye bajja ku bajjajjaabwe, bye batabakweka. Abaaweebwa ensi eno bokka, Era tewali munnaggwanga wakati mu bo. Omubi aba mu buyinike ennaku ze zonna, Omujoozi abonaabona emyaka gye gyonna. Awulira amaloboozi ag'entiisa, Lwabeera mu mirembe, lwalumbibwa abanyazi. Tasuubira kuva mu kizikiza, Era okuttibwa kw'alindirira. Abungeeta nga anoonya eky'okulya, nga yeebuuza gy'anaakijja. Amanyi nti olunaku olwa kazigizigi lumutuuseeko. Okweraliikirira n'obuyinike bimutiisa, Nga kabaka eyeeteeseteese okulwana bw'atiisa. Kubanga agalulidde Katonda omukono gwe, Nga asomoza Katonda Omuyinza w'ebintu byonna. Amufubutuka okumulumba, Agenda azuunza engabo ye ennene. Nga yeenyumiriza olwo bugevvu obw'omu maaso ge, N'obunnene obw'ekiwato kye. Era abeera mu bibuga ebidduuseemu abantu, Mu bifulukwa Ebisuliridde okuggwa. Obugagga bwe bwa kaseera buseera, Naye yennyini taliwangaala. Taavenga mu kizikiza, Aliba ng'amatabi agababuddwa omuliro, Era ng'ebimuli byagwo ebifumulwa embuyaga. Bwe yeesiga ebitaliimu aba yeerimba, Kubanga era obutalimu yeeriba empeera ye. Alikala mangu ng'ettabi, N'ataddamu kuggumiza. Aliba ng'omuzabbibu ogukunkumula ebibala byagwo ebitannaba kwengera; Era ng'omuzeyituuni ogukunkumula ekimuli. Kubanga abo abatatya Katonda banaabeeranga bagumba. Era omuliro gunaayokyanga amayumba ge baggya mu kulya enguzi. Bakola ebibi ebiva mu kulowooza kwabwe, Omutima gwabwe gujjudde obukuusa.” Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: Mpulidde bingi ebiri bwe ng'ebyo, Mu kifo eky'okumbudaabuda, munyongera nnaku. Ebigambo ebitaliimu munaabikomya ddi? Ye kiki ekikusosonkereza okunnyanukula bw'otyo? Nange nandisobodde okwogera nga mmwe bwe mwogedde, Singa mmwe muli mu mbeera gye ndimu, Nandiboogeredde amafuukuule, Nga bwe mbannyeenyeza omutwe gwange. Naye nnandyogedde ebigambo ebibagumya, Nzikkakkanye ku buyinike bwammwe. Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana: Era ne bwe nsirikirira mpeeraweerako ke nkana wa? Naye Katonda omaliddemu ddala amaanyi, Amaka gange gonna ogasaanyizzaawo! Era onkwatidde ddala, ndinga omulabe wo, N'obukovvu bwange abantu kwe basinziira, okunnumiriza nti gunsinze. Mu busungu bwe antaagudde era anjigganyizza. Era annumidde obujiji, Omulabe wange ankanulidde amaaso. Abantu bantunuulidde nga basamaaliridde. Bankungaanirako Bankuba empi nga banswaza. Katonda ampaddeyo eri ababi. Era ansuudde mu mikono gy'ababi. Nali nteredde wamu, n'ajja n'angabanyaamu. Yankwata ku nsingo n'akuba ekigwo wansi. Antaddewo ng'ekintu ky'akubirako sabbaawa ye. Abalasi be banzingizza enjuyi zonna, Ayasaamu ensigo zange nga tasaasira n'akatono, N'ayiwa endulwe yange ku ttaka. Anfubutikirako ng'omulwanyi, Nnaammenyaamenya buli nnyingo. Nkungubaga nga nesibye ekikutiya, Amaanyi gampeddemu ne ngalamira mu nfuufu. Amaaso gange gamyuse olw'okukaaba amaziga, Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa. Newakubadde bya bukambwe ne ngalo zange, N'okusaba kwange kulongoofu. Ayi ensi, togaana musaayi gwange kululuma, N'okukaaba kwange kuleme okusirisibwa. Ne kaakano, omujulirwa wange ali mu ggulu, N'omuyima wange ali waggulu. Mikwano gyange banyooma, Ntunuulidde Katonda gwe nkabira amaziga. Njagala omuntu ampolereze eri Katonda, Okufaanana ng'oyo awolereza muntu munne. Kubanga emyaka si mingi gye nsigaza giggweeko, Nditambula olugendo gye ssiriva kukomawo. Omwoyo gwange gumenyeddwa, ennaku zange ziwedde, Entaana enneeteekeddeteekedde. Mazima nneetooloddwa abakudaazi, Mbalaba nga bansosonkereza. Nteerawo nno akakalu, gwe wekka onneeyimirire, Omulala ani ananneeyimirira? Ozibye amagezi gaabwe tebategeera, Kyova obaleka balema okuwangula. Oyo alyamu banne olukwe afune sente, Abaana be zibasanze. Era anfudde ekisekererwa mu bantu, Era nfuuse gwe bawandira amalusu. Amaaso gange gazibye olw'ennaku gye ndimu, N'ebitundu byange byonna biri ng'ekisiikirize. Abantu abeeyita abalungi balaba kino ne beewuunya. basituse okunsalira omusango nti sitya Katonda. Era naye omutuukirivu anaakwatanga ekkubo lye, N'oyo alina emikono emirongoofu aneeyongerayongeranga okuba n'amaanyi. Kale mwenna mukomewo muddemu bye mubadde mugamba. Sijja kulaba mu mmwe wa magezi. Ennaku zange ziwedde, okuteesa kwange kufudde, Wamu n'okulowooza okw'omu mutima gwange. Mikwano gyange bafuusa ekiro okuba emisana, Ekizikiza bwe kikwata bagamba nti bunaatera okutangaala. bwe batyo bwe boogera. Amagombe ge nsuubira okuba ennyumba yange, Nneeyalire nneebake mu kizikiza. Mpite entaana kitange, N'envunyu mmange era mwannyinaze. Kale essuubi lyange liri ludda wa? Kye nsuubira ani akiraba? Ndikkirira nakyo mu magombe? Ngalamire nakyo mu nfuufu? Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'agamba nti: “Munaatuusa wa okunoonya eby'okwogera? Musooke okulowooza, tulyoke twogera. Lwaki otutwala nga ensolo? Lwaki otufuula abatali balongoofu mu maaso go? Ggwe eyeetaagula mu busungu bwo, Ensi erirekebwa ku lulwo? Oba olwazi luliggibwa mu kifo kyalwo? Obulamu bw'omwonoonyi buzikira ng'ettaala, Oba ng'omumuli ogutaddayo kwaka. Aliba ng'ennyumba erimu ekizikiza, Ettaala eri waggulu we bw'ezikira. Nga takyatambuza maanyi, Mu magezi ge mwagwiridde. Ebigere bye ye bimusudde mu kitimba, Era yeesudde yekka mu mutego. Omutego gumukutte ekisinziiro, Akakunizo kamunywezezza. Bamuteze akamasu mu ttaka, Bamukwese ekigu mu kkubo. Entiisa eneemukanga okuva buli ludda, Era en'emugobanga okumukwata. Enjala emuluma okumumalamu amaanyi ge, N'obuyinike bunaamubanga kumpi nnyo. Obulwadde bumazewo omubiri gwe, Bulidde ebitundu bye byonna. Anaasimbulwanga mu nnyumba ye gye yeesiga, Era anaaleetebwanga eri kabaka w'entiisa. Buli ayagala anaayingira mu nnyumba etekyali yiye, Obuganga bumansibwa mu kifo mwe yabeeranga. Aliba ng'omuti ogukala okuviira ddala mu ttaka, okutuuka waggulu mu busanso. Ekijjukizo kye tekibengawo ku nsi, Tewaabenga amujjukira. Anaagoberwanga mu kizikiza okuva mu kitangaala, Era anaaggyibwanga mu nsi. Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be, Newakubadde omuntu yenna alisigala gye yabeeranga. Abanaaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe, Ng'abo abaasooka lwe lwabaatiisa. Mazima enkomerero y'ababi bweba bwetyo ddala, Era n'abo abateesiga Katonda.” Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: Mulituusa wa okunkomekereza, N'okunneeraliikiriza n'ebigambo? Mwakanvumira emirundi kkumi, Temukwatiddwa nsonyi kumpisa mutyo? Era ne bwe kyandibadde nti nnayonoona, Okwonoona kwandibadde ku nze nzekka. Ne bwe munanneegulumirizaako, Nga mufuula obuyinike bwange ekibi, Mutegeere nno nga Katonda kino yakintusizzaako, Era ye yanzingiziza. Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye tewali ampulira, Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa. Katonda azibye ekkubo lyange, siyinza kuliyitamu. Era amakubo gange agataddemu ekizikiza. Anzigyeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange. Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti. Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampisa omu ku balabe be Amagye ge gakungaana wamu, ne geteekateeka okunnumba, Ne gasiisira okuzingiza ennyumba yange. Katonda anjawukanyiza ne baganda bange, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi. Ab'ekika kyange baneesambye, Ne mikwano gyange ennyo banjabulidde. Abo be nakyazanga mu nnyumba yange n'abazaana bange banneerabidde Bandaba nga munnaggwanga. Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Ne bwe mmwegayirira tanfaako. Mukyala wange anneesamba. Abaana ba mmange tebansemberera. N'abaana abato banyooma. Bwe nsitukawo nga banjogerako bubi. Emikwano gyange ennyo nabo bantamiddwa, N'abo be nnayagalanga ennyo baneefuulidde. Nsigadde magumba meereere, Era mponedde watono obutafa. Munsaasire, munsaasire, mmwe mikwano gyange, Kubanga omukono gwa Katonda gunyigiriza. Lwaki munjigganya nga Katonda bw'anjigganyizza? Kye mbonyeebonye tekibamala? Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo! Singa byoleddwa ku lwazi n'ekkalaamu ey'ekyuma, N'ekisasi bibeerewo emirembe gyonna. Naye mmanyi ng'Omununuzi wange mulamu, Era ye yalisalawo eky'enkomerero ku nsi: Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda, Gwe ndiraba nze nzennyini, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Omutima gwange gweralikirira. Bwe munaagamba nti, “Katumuyigganye, Kubanga ye yavaako okumuyigganya.” Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza n'ekitala, Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango. Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'agamba nti: “Olw'ebigambo by'oyogedde ebirowoozo byange, Bimpaliriza okwanguwa okubaako kye njogera. By'oyogedde binyiizizza, Ne mpulira nga nteekwabuteekwa okukwanukula. Ggwe tokimanyi okuva ddi, Bukya omuntu ateekebwa ku nsi, Essanyu ly'ababi liba limpi? Era n'essanyu lya bo abatatya Katonda lya kaseera buseera? Ne bw'akula n'aba muwagguufu okutuuka N'omutwe gwe nga gutuuka ku bire, Naye alifuuyibwa embuyaga n'emumalawo ng'enfuufu. Abo abaamulabanga balyebuuza gye yalaga. Alibulawo ng'ekirooto, n'atabeerawo. Oba alibulirawo ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro. Taliddayo kulabibwako, Nga n'ekifo we yabeeranga takyaliwo. Abaana be baliddiza abaavu, Ebintu bye yali ababbyeko. Newakubadde nga akyalina amaanyi ag'ekivubuka, Naye aligalamira nago mu nfuufu. Ekibi newakubadde nga kimuwoomera mu kamwa ke, N'akikwekako ne wansi w'olulimi lwe, N'akisigaza mu kamwa ke, Asigale ng'akyakinuuna, Naye emmere ye mu lubuto lwe efuuka, Ng'obusagwa bw'omusota munda ye. Obugagga bwe yamira anaabusesemanga nate: Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe. Ky'anuuna kiri nga butwa: Kimutta nga busagwa bwa musota. Taliwangaala kulaba ku birungi Katonda by'agaba, Ebiringa emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'amata. Kye yateganira alikiwaayo kyonna, talikirya, Era taasanyukirenga mu bintu bye yafuna. Kubanga yayisa bubi abaavu n'atabafaako, Yanyaga amayumba g'atazimba. Kubanga omululu gwe tegwamuganya kumatira, Talisigaza kintu ku ebyo by'ayagala. Bwalya talina kyasigazawo, Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera. W'alibeerera n'ebingi ebivuluuja w'alirabira ennaku n'adooba, Atuukibweko buli kizibu. Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Ne kimufuukira emmere ye. Alidduka eky'okulwanyisa eky'ekyuma, N'afumitibwa akasaale ak'ekikomo. Kamuyitamu ne kafuluma: Omumwa gwako ogumasamasa, ne guyita mu kalulwe ke. Alikwatibwa ebitiisa. Eby'obugagga bye biritokomoka, Omuliro ogutakumibwa bantu gulimwokya, Ne gusaanyaawo ne by'asigazzaawo mu nnyumba. Eggulu liryerula ebibi bye, N'ensi n'emulumiriza. Ebintu eby'omu nnyumba ye birinyagibwa Ku lunaku Katonda lw'alisunguwala. Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda, Bwe busika Katonda bwe yamuteerawo.” Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: “Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange, Ekyo kye kinaampa emirembe. Munzikirize, njogere, Kale nga mmaze okwogera, munaayongera ne muduula. Nze sinnemulugunyiza abantu. Kale lwaki siba atali mugumiikiriza? Muntunuulire, mwewuunye, Era mukwate ne ku mumwa! Bwe ndowooza ku kyantuukako, nneekanga, Nneesisiwala nzenna. Lwaki Katonda aleka ababi okuwangaala, Ne bakaddiwa nga ba maanyi? Bafuna abaana n'abazzukulu, Ne babeerawo okulaba bwe bakula. Baba mu mirembe mu maka gaabwe nga tebalina kibatiisa, Ne Katonda tababonereza n'akatono. Ente zaabwe ziwaka, Ne zizaala bulungi nga tewali esowodde. Bazaala omuyeye gw'abaana, Ne baligita ng'obuliga. Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, Ne banyumirwa eddoboozi ly'omulere. Bafuna ebirungi mu bulamu bwabwe, Era bafiira mu mirembe. Era naye ne bagamba Katonda nti: Tuveeko, Kubanga tetwagala kumanya makubo go.” “Ye ani Omuyinza w'ebintu byonna tumuweerezenga? Kitugasa ki okumusabanga? Bo bagamba nti bye bafuna babifuna lwa maanyi gaabwe. Okuteesa kw'ababi sikukkiriza. Ettaala y'ababi ddi lwe zikizibwa? N'obuyinike bubatuukako ddi? Era ddi Katonda lwe yali ababonereza mu busungu? Ne baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo, Oba ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga? Mugamba nti, ‘Katonda abonereza abaana olw'ebibi bya bakitaabwe.’ Naye bakimanye nti Katonda ababonereza lwa bibi byabwe bo bennyini. Ababi balabe okuzikirira kwabwe bo, Banywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna. Kubanga bwe bamala okufa, Bafaayo kw'ebyo ebituuka ku b'omu maka gaabwe? Omuntu ayinza okuyigiriza Katonda? Asalira omusango n'abo abali mu bifo ebya waggulu? Wabaawo omu afa ng'ali bulungi, Ng'ateredde ng'alina emirembe. ng'omubiri gwe munene, munyirivu, Ng'alabikira ddala nga muvubuka. N'omulala afa mwennyamivu, Nga tafunangako ssanyu. Bombi bagalamira mu nfuufu, Ne babikkibwako envunyu. Mmanyi ebirowoozo byammwe, N'akabi ke muteesa okunkolako. Kubanga mubuuza nti, ‘Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Ennyumba y'abaakolanga ebibi eri ludda wa?’ Temwababuuza abatambula engendo? Temuwuliranga mawulire ge badda nago, Nti akabi lwe kagwawo omuntu omubi y'awonawo? Ne Katonda lw'asunguwala, era akola ebibi gwataliza? Ani ayinza okwesimba mu maaso ge amulumirize omusango? Era ani anaamusasula nga bwe yakola? Bw'alitwalibwa mu ntaana, Amalaalo ge bagakuuma. Abantu bangi abamuwerekera okumuziika, Abamu bakulemberamu, n'abalala ne bavaako emabega, Ne bamuyiwako bulungi ettaka. Kale nno munambudaabuda mutya nga mwogera ebigambo ebitaliimu? Kubanga bye munziramu byonna bya bulimba.” Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'agamba nti: Omuntu ayinza okugasa Katonda? Mazima ow'amagezi yeegasa yekka. Katonda alina kyaganyulwamu ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ki ggwe okuba nga watukirira mu amakubo go? Kubanga omutya kyava akunenya, Era kyava akuwozesa? Ebibi byo si bingi? So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko kkomo Kubanga waggya ku baganda bo emisingo egy'obwereere, N'obambula engoye zaabwe n'obaleka bwereere. Abakooye tewabawanga mazzi kunywa. Era wammanga abayala emmere. Wakozesa amaanyi okutwala ettaka lyonna, N'owaako abo bokka boyagala. Wegobako bannamwandu n'otobayamba. Walumyanga ne bamulekwa, ng'obanyagako ebintu byabwe. Obukunizo kyebuva bukwetooloola, N'entiisa ne kujjira noweraliikirira. Ekizikiza kikubuutikidde toyinza kulaba, Olinga abikiddwako amazzi amangi. Katonda ali waggulu mu ggulu. Alaba emmunyeenye gye zeewanise. Naawe obuuza nti, “Katonda amanyi ki? Ayinza okusala omusango ng'abikkiddwako ebire ebikutte ekizikiza?” Olowooza nti ebire ebikwafu bimuziyiza okulaba, Nga atambula ku kwekulungirira kw'eggulu. Oyagala okukwata ekkubo ery'edda Abantu ababi lye batambulirangamu? Baafa entuuko zaabwe nga tezinnatuuka, Ne baba ng'omusingi ogusaanyiziddwawo mukoka. Bano be bantu abaagambanga Katonda nti, “Tuveeko.” Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukola ki? Sso ng'ennyumba zaabwe yazijjuza ebirungi. Naye okuteesa kw'ababi sikukkiriza. Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka; N'ataliiko musango abasekerera nnyo: Ng'agamba nti, “Mazima abalabe baffe bamaliddwawo, N'abo abafisseewo omuliro gubasaanyizzawo. Tabagana ne Katonda obeere n'emirembe, Olwo onoofuna ebirungi. Kkiriza by'ayigiriza, Era okuume ebigambo bye mu mutima gwo. Weetoowaze okyuke odde eri Omuyinza w'ebintu byonna, oggyewo ebibi byonna, Ebikolebwa mu nnyumba yo. Suula eby'obugagga bwo mu nfuufu, Ne zaabu ow'e Ofiri mu mayinja ag'omu bugga, Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo, Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli. Kubanga Omuyinza w'ebintu byonna, alikuwa essanyu lingi, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda nga tolina ky'otya. Onoomusabanga, naye anaakuwuliranga. Naawe onoosasulanga obweyamo bwo. Era onoosalangawo eky'okukola n'okituukiriza. Ekitangaala kinaabeeranga mu makubo go. Katonda asa wansi abamalala, N'alokola eyeetoowaza. Awonya omuntu ataliiko musango. Kale anaakuwonyanga nga toliiko musango.” Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: “Ne leero okwemulugunya kwange kuka, Omukono gwe gwa maanyi ku nze, newakubadde nga nsinda. Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira, Singa nnyinza okutuuka n'awali entebe ye! Nandisengese ensonga zange mu maaso ge, Sandireseyo n'emu. Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu, Ne ntegeera bye yandiŋŋambye. Yandinnyombesezza olw'obukulu bw'obuyinza bwe? Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo. Eyo ow'amazima ayinza okuwoza naye, Nange nandyejjerezeddwa omulamuzi wange ne biggwa. Munnoonya ebuvanjuba, naye nga Katonda taliiyo, N'ebugwanjuba, nayo ne simulabayo. Katonda bw'akola omulimu mu bukiikakkono, ssiyinza kumulaba. Bwe yeekweka mu bukiikaddyo, ssiyinza kumulaba. Naye amanyi ekkubo lye nkwata. Bw'alimala okungeza, ndivaamu nga zaabu. Ntambulira ddala mu bigere bye. Ekkubo lye naalikwata ne ssikyama. Sivanga ku biragiro bye. Nneekuuma ebigambo bye sso si ebyo nze bye njagala. Naye ye y'omu bulijjo, tewali ayinza okumukyusa. Akola ekyo ye kyayagala. Ajja kutuukiriza ekyo kye yanteekerateekera. Era alina bingi ebiri ng'ebyo. Kyenva nfuna entiisa waali, Bwe ndowooza mmutya. Kubanga Katonda anzirisizza, Omuyinza w'ebintu byonna antisizza. Katonda ye antiisa sso si nzikiza, Wadde yo enzibye amaaso gange.” Lwaki Omuyinza w'ebintu byonna tateekawo kiseera kya kusaliramu musango? Lwaki n'abo abamumanyi tebalaba bwasalira ababi omusango? Waliwo abajjulula obubonero bw'ensalo, ne beeyongeza ettaka, Banyaga ebisolo, ne babyerundira ng'ebyabwe. Batwala endogoyi ya mulekwa. Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo. Bagoba abaavu bave mu luguudo. Abaavu ab'omu nsi baba balina kwekweka. Olwo abaavu ne baba ng'entulege mu ddungu. Babeera eyo nga bakola okufuna eky'okulya, n'okuwa ku baana baabwe balye. Banoonya emmere ey'ebisolo byabwe mu nnimiro ezitali zaabwe. Era banoga ezabbibu mu nnimiro za babi. Basula bali bwereere, ne bakeesa obudde. Nga tebalina kye beebise okuwona empewo okubafuuwa. Enkuba ebatobeza mu nsozi. Ne beekwata ku lwazi, nga babuliddwa we beggama. Waliwo abakwakula abatalina kitaabwe ne babaggya ku mabeere, Ne batwala omwana wo mwavu okuba omusingo. Abaavu bayita bwereere, nga tebalina kye bambadde, Enjala n'ebaluma nga beetise ebinywa. Bakamulira amafuta g'Omuzeyituuni mu bisenge by'abasajja abo, Babasogolera omubisi gw'omuzabbibu, naye bo ne balumwa ennyonta. Abantu bafa basinda mu kibuga, N'abafumitiddwa balajjana. Naye Katonda tafaayo ku kwegayirira kwabwe. Waliwo abajeemera omusana, Tebamanyi bya musana, Beewala okubeera mu kkubo lya gwo. Omutemu agolokokera wamu n'emmambya n'atta omwavu n'omunaku. Ate ekiro n'aba omubbi. Omwenzi alinda obudde okukwata ekizikiza, Naagamba nti, “Tewali anandaba.” Naakweka amaaso ge. Mu kizikiza ababi mwe basimira ennyumba, Emisana beggalira, Nga beewala ekitangaala. Eky'obudde okukya bitya, Kubanga bamanyidde ebitiisa eby'omu nzikiza. Omubi akulugusibwa nga mukoka. Ettaka lye likolimiddwa. Talina n'omu akola mu nsuku z'emizabbibu gye. Ng'ebbugumu ly'ekyeya bwe limalawo amazzi g'omuzira, N'amagombe bwe gatyo bwe gamalawo omwonoonyi. Ne nnyina yennyini amwerabira. envunyu zimweriira; Tajjukirwenga nate: Azikirira ng'omuti ogutemeddwa. Ayisa bubi omukazi omugumba, Era ne nnamwandu tamuyisa bulungi. Katonda alina amaanyi okuggyawo abazira, Asituka n'abamalako essuubi ery'okuba abalamu. Katonda abawa emirembe, ne beeyinula. Naye amaaso ge gali ku makubo gaabwe. Bagulumizibwa okumala ekiseera, oluvannyuma ne babulawo. Batoowazibwa, baggyibwawo ng'abalala bonna. Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano. Era oba nga si bwe kiri, ani anaannumiriza nti nnimba, Naafuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa? Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'agamba nti; Okufuga n'entiisa biri ne Katonda. Aleeta emirembe mu bifo bye eby'omu ggulu. Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataakirwa musana gwe? Kale omuntu ayinza atya okuba omutuukirivu mu maaso ga Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi? N'omwezi tegwakaayakana, N'emmunyeenye ziba ng'ezitalina kitangaala mu maaso ge. Kale kiri kitya eri omuntu envunyu obuvunyu; Omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi! Awo Yobu n'addamu n'agamba nti, “Ng'oyambye omunafu ali nga nze! Ng'olokodde ataliimu maanyi! Owadde amagezi atalina ky'amanyi, Oyogedde bingi by'otegeera obulungi! Ani akuyambyeko okwogera obulungi bw'otyo? Ebigambo ebyo obijje w'ani? Abaafa bakankana Wansi w'amazzi n'ababeera omwo. Emagombe teri kikwekeddwa Katonda. N'okuzikirira tekulina kikukweka. Abamba eggulu ery'omu bukiikakkono mu bbanga ejjereere, Era awanika ensi awatali kigiwanirira. Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu; Ne bitayulika olw'obuzito. Akweka entebe ye, Ng'agibikkako ebire bye. Yassaawo enkulungo ku nnyanja, Okwawula ekitangaala ku kizikiza. Empagi ez'eggulu zikankana Bwakangamu okuzisaanyaawo. Obuyinza bwe bukkakkanya ennyanja. Olw'amagezi ge afumitira ekikulekule Lakabu. Yafuuwa empewo neyerula Eggulu Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka. Naye ebyo katundu butundu ak'ebyo by'akola. Era bye tumuwulirako bye bitono ddala. Naye obuyinza bwe obw'amaanyi ani ayinza okubutegeera?” Awo Yobu n'addamu okwogera n'agamba nti: “Nga Katonda bw'ali omulamu anziggyeko eddembe lyange, Era Omuyinza w'ebintu byonna, andeetedde okunyolwa mu mwoyo, gwe ndayira nti: Nga nkyali mulamu, Era nga nkyasa omukka Katonda gwe yampa, Siriyisa bya bulimba mu kamwa kange; Wadde okwogeza olulimi lwange eby'obukuusa. Kye sisobola kukola kwe kubagamba nti mmwe muli batuufu. Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange. Obutuukirivu bwange mbunyweza siribuvaako, Omutima gwange tegunsalirenga musango nga nkyali mulamu. Omulabe wange abonerezebwenga ng'omubi. N'oyo anumbaganye akolweko ng'atali mutuukirivu. Ssuubi ki atamanyi Katonda lya lina, Katonda ng'amukomeza, N'amuggyako obulamu bwe? Katonda aliwuliriza okukaaba kwe, Ennaku bwe ziri mutuukako? Anaasanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, N'akaabira Katonda mu biro byonna? Ka mbayigirize mmwe nti Katonda wa buyinza. Ssi bakweke ebifa ku Muyinza w'ebintu byonna. Naye nammwe bennyini mubyerabiddeko n'amaaso gammwe. Kale lwaki mwogera ebitalina makulu? Guno gwe mugabo Katonda gw'awa ababi, Bwe busika bw'abajoozi bwe baweebwa Omuyinza w'ebintu byonna. Abaana be bwe baala, baba ba kufa kitala. Ne zzadde lyabwe terikkuta mmere. Abanaawonanga okufa ekitala, banattibwanga olumbe. Ne bannamwandu be tebaakungubagenga. Omubi ne bw'alikungaanya ffeeza ezitabalika, N'abeera ne byambalo ebingi ennyo, Okutegeka ayinza okubitegeka, naye omutuukirivu ye alibyambala, Era ataliiko musango ye aligabana ffeeza. Ennyumba gy'azimba eba ya kiwojjolo, teba ngumu. Era ng'ensiisira y'omukuumi w'ennimiro. Agenda okwebaka nga mugagga, kyokka taliddayo kuba bw'atyo. W'alizibulira ati amaaso ng'obugagga bwe tebukyaliwo. Ebitiisa bimutuukako ng'amazzi agakulukuta, Ekiro Kibuyaga n'amukuŋŋunsa. Embuyaga ez'ebuvanjuba zimusitula n'agenda, Ne zimukunguzza okumujja w'abeera. Emufuumuula awatali kusaasira, Ng'afuba okugyetakkuluzaako. Abantu balimukubira mu ngalo, Era balimusooza ave mu kifo kye.” Mazima waliwo ekirombe omusimwa ffeeza, N'ekifo gye balongoseza zaabu. Ekyuma bakisima mu ttaka, N'ekikomo bakisaanuusa okuva mu mayinja. Abantu bagoba enzikiza nga bakoleeza attaala, Ne banoonya eyo mu ttaka wansi, Amayinja mu bunyomero, mu kkuzimu, ge banaasimayo. Basima ne bakira ddala eyo ewala eteri bantu, Abantu gye batatambulira, Bakira ku miguwa, ne babeera eyo bokka. Emmere erimwa ku nsi. Naye wansi w'ensi, wali ng'awali omuliro. Enjazi zaayo mwe baggya amayinja Safiro, Ne mu nfuufu yaayo mulimu zaabu. Ekkubo lyayo tewali nnyonyi eyigga erimanyi, Ne kamunye talirabanga. Ensolo enkambwe teziririnnyangamu, So n'empologoma teriyitangamu. Abantu baasa amayinja ag'embaalebaale, Bawuukuula ensozi okutuukira ddala ku ntobo zaazo. Batema emikutu mu njazi, Ne balaba buli kintu eky'omuwendo ennyo. Batangira emigga gireme okukulukuta, Ebyakwekebwa ne babiteeka awalaba. Naye amagezi gasangwa wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa? Omuntu tamanyi muwendo gwago, Tegasangibwa mu nsi y'abalamu. Obuziba bugamba nti, N'ennyanja egamba nti, “Tegali we ndi.” Tegafunika na zaabu, So topima ffeeza okugagula. Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu ow'e Ofiri, Wadde amayinja ag'omuwendo Onuku oba safiro. Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana. Tegayinza kuwaanyisibwa na kintu ekyakolebwa mu zaabu omulungi ennyo. Omuwendo gwago gusingira ddala amayinja ga kolali n'amayinja ag'endabirwamu. Weewaawo, omuwendo gw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu. Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga, So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi. Kale amagezi gava wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa? Kubanga ebiramu byonna tebigalaba, Newakubadde ennyonyi ez'omu bbanga. Okuzikirira n'Okufa bigamba nti: “Twawulira bye bagoogerako mu ŋŋambo. Katonda yekka yamanyi gye gabeera, Era ye amanyi ekifo kyago. Kubanga ye atunuulira ensi okutuuka ku nkomerero yaayo. Era alaba buli kintu ekiri wansi w'eggulu. Yawa empewo obuzito bwayo, N'apima amazzi n'ekipima. Bwe yateekera enkuba etteeka, N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka. Awo n'alaba amagezi, n'agalangirira. N'agakebera n'agakenneenyeza ddala. N'agamba abantu nti: Okutya Mukama ge magezi, N'okuva mu kibi kwe kutegeera.” Awo Yobu n'ayongera okwogera, n'agamba nti: Singa mbadde nga bwe nnali mu kiseera kiri, Katonda mwe yandabirirangamu! Ettaala ye bwe yayakiranga ku omutwe gwange, Ne mmulisiza mpite mu kizikiza. Mu biseera ebyo nali bulungi, Omukwano gwa Katonda gwa kuumanga amaka gange. Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange, N'abaana bange nga banneetoolodde. Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'amata, Nga n'amafuta g'Omuzeyituuni gakulukutira ku lwazi. Bwe nnafulumanga okugenda ku mulyango gw'ekibuga, Ne nteeka entebe yange mu kibangirizi, Abavubuka baandabanga ne banviira. Abakadde ne basituka ne bayimirira; Abakungu ne basirika Ne bakwata ku mumwa, Abakulu ne batanyega, Wadde okuwulira awuuna! Abaawuliranga bye njogera n'abandabanga nga banneebaza. Nga banjogerako birungi byereere. Kubanga nnawonyanga omwavu eyankabiriranga, N'eyafiirwako kitaawe, atalina amuyamba. Be nnawonyanga okufa bansabiranga omukisa, Ne bannamwandu bye n'abakoleranga byabasanyusanga ne bayimba. N'ayambala obutuukirivu ne bunneetooloola, Obwenkanya bwange ne buba ng'ekyambalo kyange, n'engule. Nnakulemberanga omuzibe, Era ne mpaniriranga omulema. Nabanga kitaabwe abaavu. Era nakkaanyanga ensonga z'abo be simanyi. Era n'amenyanga emba z'aboonoonyi, Ne mbaggya omuyiggo mu mannyo gaabwe. Nnalowooza nti Ndifiira mu kisu kyange, Nga mpangadde ennaku nnyingi nnyo. Nali ng'omuti ogulandiza emirandira awali amazzi, Nga n'omusulo gugwa ku matabi gaagwo okumala ekiro kyonna. Naweebwanga ekitiibwa bulijjo, N'amaanyi gange gaddanga buto. Abantu basirikanga ne ba mpuliriza, Ne bawulira bye mbabuulirira. Bwe n'amalirizanga okwogera, nga tebalina kye bongerako. Ebigambo byange bya bamalanga. Bbannindiriranga ng'abalindirira enkuba. Era nga balinga abalimi bwe basanyukira enkuba eya ttoggo. Bwe nnabasekeranga nga tebayinza na kukkikiriza! Akaseko kange ku maaso, kaabazzangamu amaanyi. Nnabeeranga mukulu mu bo ne mbasalirangawo eky'okukola. Ne mbeera nga kabaka mu ggye, Ng'omuntu akubagiza abakungubaga. Naye kaakano be nsinga obukulu be bansekerera. Bakitaabwe n'abanyoomanga be ssakkirizanga kubeera wamu n'embwa ezakuumanga ekisibo kyange. Abantu abo bandingasizza ki, Abatakyalimu maanyi? Olw'obwavu n'enjala, Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza mu ddungu. Banoga enkunga mu ebisaka. N'emirandira gy'omwoloola ye mmere yaabwe. Bagobebwa mu bantu, Ne bakubirwa enduulu ng'ababbi. Bagwanira kubeera mu mifulejje ne mu miwaatwa; Mu bunya obw'omu ttaka ne mu mpuku ez'omu njazi Bakaabira mu bisaka ng'ensolo, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira. Baana ba basirusiru, baana ba basajja abatamanyiddwa. Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi. Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe, Nfuuse ngombo yaabwe. Banneetamiddwa, banneesamba, Tebaleka kumpandira malusu mu maaso. Kubanga Katonda andese n'ammala amaanyi, Kye bagala kye bakolera mu maaso gange Ku mukono gwange ogwa ddyo esituseeyo abalalulalu: Bansindikiriza, Era bategeka okunnumba okunzikiriza. Baziba ekkubo lyange, basobole okunzikiriza, Tewali wa kubaziyiza. Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi: Mu matongo wakati okungwako. Ebitiisa binzijjira, Ekitiibwa kyange kigenze ng'empewo. N'omukisa gwange guweddewo ng'ekire. Kaakano obulamu bumpweddemu, Ekiseera eky'obuyinike kituuse. Ekiro amagumba gameketa, N'obulumi bwe nnina tebusalako. Amaanyi gaabwo gafuukudde omubiri gwange, Bunyigirizza ng'obulago bwe kyambalo kyange. Katonda ansudde mu bitosi, Era nfuuse nga nfuufu na vvu. Nkukaabira ayi Katonda so tonziramu. Nnyimirira, n'ontunuulira, butunuulizi. Onfukidde omukambwe, Onjigganya n'amaanyi go gonna. Ondeka embuyaga okunkuŋŋusa, N'onjuuyayuuyiza omwo. Ddala mmanyi ng'ontwala mu kufa, Emagombe erigenda bonna abalamu. Lwaki olumba omuntu azikirira, atakyalina maanyi? Atakyalina ky'ayinza kukola, wabula okusaba obuyambi? Saamukaabira wamu n'abo abalinga mu nnaku? Era ssaanakuwaliranga wamu Nabali mu bwetaavu? Bwe nnasuubira ebirungi, ebibi ate bye bijja, Era bwe nnalindirira omusana, ekizikiza kye kijja. Omutima guncankalanye tegulina bwe guweera. Ekiseera eky'okubonaabona kituuse. Ntambula nga nnakuwadde, sirina kusaasirwa. Nneesimba we bakungaanidde, ne nsaba bannyambe. Ndi muganda wa bibe, Era mukwano gwa zi maaya. Omubiri gwange guddugadde, gususumbuka, Mbunye ebbugumu nzenna. Ennyimba ze nkuba ku nnanga yange, kati za kukungubaga. N'omulere gwange ngufuuyira abo abakaaba amaziga. Nnasalawo okuziyiza amaaso gange. Kale nnandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala? Katonda yampa mugabo ki oguva waggulu gy'ali? Nnafuna busika ki okuva ew'Omuyinza w'ebintu byonna mu ggulu? Akabi tekajjira oyo atali mutuukirivu? N'okulaba ennaku tekujjira abo abakola eby'obujeemu? Katonda talaba makubo gange? Naabala na buli kigere kye nsitula? Oba nga nnatambulira mu bulimba, Oba nga ebigere byange nnabyanguyanga okubitwala mu kukuusakuusa. Mpimibwe mu minzaani epima ekituufu, Katonda alyoke amanye nti siyonoonanga. Oba nga nnakyama n'enva mu kkubo ettuufu, Omutima gwange oba nga gwali guwabye okugoberera amaaso gange, Oba okukozesa engalo zange ekibi okweretako ebbala. Kale nze nsige, omulala abirye. Emmere ey'omu nnimiro yange ekuulibwe esuulwe. Oba omutima gwange gwali gwegombye muk'omusajja, Ne nteegera ku mulyango gwa muliraanwa. Kale mukazi wange afumbire omulala, Era abalala beegatte naye. Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve. Kyandibadde kibi ekigwana okuleetebwa eri abalamuzi okukibonereza. Kyandibadde muliro ogwokya ne guzikiriza, Ogwandiwemmense buli kyange kyonna. Oba nga nali ngaanyi okuwuliriza ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Nga baneemulugunyiza. Kale ndikola ntya, Katonda bw'alisituka? Era bw'alimbuuza, ndimuddamu ntya? Eyantonda mu lubuto naye si ye yamutonda? Si ye omu eyatubumba ffembi mu lubuto? Si ganaanga kuwa mwavu kye yeetaaga, Oba okumalawo essuubi lya nnamwandu. Siryanga mmere yange nzekka, Nga siwaddeko atalina kitaawe. Okuva mu buto bwange, nnalabiriranga mulekwa nga kitaawe, Sseekekanga kuyamba bannamwandu n'akatono. Bwe nnalabanga omuntu afa olw'okubulwa eky'okwambala, Oba omwavu atalina kye yeebikka, Nga muwa eky'okwebika, Ekikoleddwa mu byoya bya ndiga zange. Oba nga nali ndyazaamaanyizza mulekwa, Nga nneesiga abalamuzi okunyamba. Kale ekibegabega kyange kiweekukeko. N'omukono gwange gumenyeke eggumba. Olwo kuba nga ntya okubonerezebwa Katonda, Nga siyinza kukola bintu biri ng'ebyo. Si fuulanga zaabu okuba essuubi lyange, Era sigambanga zaabu ennungi nti, “ Ggwe bwesige bwange.” Si teekanga ssanyu lyange mu by'obugagga bwange bungi, Wadde okwesiima olw'ebintu byange ebingi bye nnalina. Nali ntunuulidde enjuba mu kwaka kwayo, Oba omwezi ogutambulira mu kumasamasa, Omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama, Ne nnywegera ekibatu kyange okubisinza. Na kino nakyo kyandibadde kibi ekigwana okuleetebwa eri abalamuzi okukibonereza. Kubanga nnandibadde nneegaanye Katonda ali waggulu. Si sanyukiranga kuzikirira kw'oyo ankyaye, Oba okujaganya nga atuukiddwako akabi. Ssaganya kamwa kange kwonoona, Nga nkolima, nti afe. Ddi ababeeranga mu maka gange lwe baatabuuza nti: “Ani atakuse nnyama gyagabudde?” Abatambuze tebasulanga mu luguudo, Naye twabaanirizanga mu nnyumba yange. Si bikkanga ku kusobya kwange, Ng'abamu abakisa obutali butuukirivu bwabwe. Olw'okutya ekibiina ky'abantu, N'okunyoomebwa ab'ekika kyange. N'okusirika ne nsirika ne siva mu nnyumba. Kale singa waliwo awulira bye njogera! Ebigambo bye nkakasa, Omuyinza w'ebintu byonna anziremu. Nnandyagadde oyo ampawaabidde ampe omusango mu buwandiike. Mazima nandikisitulidde ku kibegabega kyange kirabibwe, Nnandikyetikkidde ng'engule ku mutwe gwange. Nnandimubuulidde okutambula kwange kwonna, Nnandimusemberedde sirina kutya kwonna. Singa n'abba bubbi ettaka, Lya ndikaabye okulidizza nannyiniryo. Oba nga nali ndidde ebibala byamu nga sisasudde, Oba ne ndeka enjala ette bannannyini ttaka, Omwennyango gukule mu kifo ky'eŋŋaano, Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu bikomye wano. Awo abasajja abo abasatu ne balekerawo okuddamu Yobu, kubanga yabalaga nti yali talina kibi kye yali akoze. Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mutuukirivu n'anenya Katonda. Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gya Yobu abasatu kubanga baabulwa kye baddamu Yobu, naye ne bamusalira busalizi musango. Era Eriku yali alindirira okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abali baamusinga obukulu. Awo Eriku bwe yalaba nga abasajja abo abasatu tebakyalina bigambo bya kwanukula Yobu, obusungu bwe ne bubuubuuka. Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'agamba nti, “Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo, Kyennavudde ntya ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza. Ne ŋŋamba nti, ‘Abakadde ka boogere, Kubanga emyaka gyabwe giraga amagezi.’ Naye omwoyo wa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, Ajja ku bantu n'abawa okutegeera Okukula si kwe kugeziwala, Abakulu si be bagezi, So n'okukaddiwa si be bategeera ekituufu. Kyenva ŋŋamba nti; Mumpulirize, Nange mbategeeze kye ndowooza. Mbawuliriza nga mwogera, Mpulire oba nga munayogera ebya makulu, Naye nga ebigambo munoonya binoonye. Mbawuliriza bulungi, Sirabye n'omu avuganya Yobu mu bigambo, Wadde asobodde okumwanukula. Mwekuume muleme kwewaana nti amagezi mugazudde. Katonda ye ayinza okumuwangula, si bantu. Ebigambo bye tabyolekezza nze. Nange ssiimuddemu na bigambo ebiringa ebyo ebyammwe. Basobeddwa, babuliddwa eby'okuddamu, Tebakyalina kya kwogera. Kale nange nsirike busirisi nga nabo bwe basirise? Tebakyalina kye baanukula? Naye nze nja kubaako kye nziramu. Nnabategeeza kye ndowooza. Eby'okwogera nnina bingi. Mpulira muli ekimpika njogere. Omutima gwange gulinga omwenge omusu omusaanikire, Ogwagala okwabya mwe guteekeddwa. Nina okwogera ndyoke mpeere. Nteekwa okubaako kye njogera. Sijja kwe kubiira ku ludda lwa muntu yenna. Era sijja kubaako gwe mpaana. Kubanga simanyi kuwaaniriza, Sikulwa ng'Omutonzi wange anziggyawo mangu.” Naye, Yobu, kaakano, wulira bye ngenda okwogera. Wuliriza ebigambo byange byonna. Ka ntandike okwogera, Kanfukumule byonna byenjagala okwogera. Ebigambo byange bye biraga nti ndi mwesimbu, Njogera bya mazima omutali bukuusa. Omwoyo wa Katonda ye yantonda, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu. Oba oyinza, nziraamu. Tereeza bulungi ensonga zo, oyimirire mu maaso gange. Gwe nange mu maaso ga Katonda tufaanagana, Ffembi twabumbibwa mu ttaka. N'olwekyo tonenya nakatono, Sijja kukuzitoowerera. Mazima oyogedde nze nga mpulira, Nange mpulidde ebigambo byo ng'ogamba nti: “Ndi mulongoofu, sirina kyenasobya, Siriiko musango, temuli kibi mu nze. Naye Katonda alina kyeyekwasa, Ampita mulabe we. Ateeka ebigere byange mu nvuba, Alaba amakubo gange gonna.” Naye ka nkutegeeze ggwe Yobu, nti mu kino oli mukyamu. Katonda asingira ddala omuntu obukulu. Lwaki omwemulugunyiza ng'ogamba nti: “Nga tanziramu bye mugamba? Katonda ayogera emirundi mingi, Naye nga tewali muntu assa mwoyo ku bigambo bye. Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu, Nga babongootera ku bitanda. Awo Katonda w'aggulira amatu g'abantu, N'abategeeza byayagala wamu n'okubalabula. Abaggye mu bikolwa byabwe ebibi, Era abaziyize okuba abamalala. Abawonya okukka emagombe, N'abaggya mu kufa. Omuntu okulumwa kumukangavvulira ku kitanda kye, Obulumi ne bujjula mu magumba ge. Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa eby'okulya, N'ebyamuwoomeranga ng'atakyabyegomba. Omubiri guggwaawo n'akogga. N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala. Ddala asemberera omugo gw'entaana, N'abo kumuzikiriza nga bamulindiridde. Naye bw'afuna omu ku bamalayika ba Katonda, Enkumi n'enkumi, Abategeeza abantu ebibagwanira okukola. N'amukwatirwa ekisa n'agamba Katonda nti, Muwonye aleme okukka emagombe. Mmulabiddeyo omutango. Omubiri gwe gulidda buggya ng'ogw'omwana omuto, Era addamu maanyi agobuvubuka bwe. Olwo omuntu oyo asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa, N'ajja mu maaso ge nga musanyufu, Kubanga amuwonyeza okufa. Ayimbira mu maaso g'abantu ng'agamba nti: Nnayonoona, ne nkola ebitasaana. Naye Katonda natambonereza. Anunudde ne sikka magombe. Nja kwongera okuba omulamu. Mazima ebyo byonna, Katonda abikolera abantu bulijjo. Okubawonya amagombe, N'abawa essanyu olw'okuba abalamu. Kaakano nno Yobu, wuliriza gye ŋŋamba. Sirika, ondeke njogere. Naye oba nga olina eky'ogamba, Yogera, kubanga njagala okukakasa nti tolina musango. Naye oba nga tokirina, sirika owulire bye ŋŋamba. Nkuyigirize eby'amagezi.” Awo Eriku n'agamba nti: Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab'amagezi. Era mu mpulirize, mmwe abalina okutegeera. Kubanga okutu kuwulira ne kwawula ebituufu ku bitali bituufu, Nga n'olulimi bwe lwawula emmere ewooma n'etewooma. Twawulemu ekituufu. Twesalirewo fekka na fekka ekirungi bwe kiri. Kubanga Yobu agambye nti: “Nze siriiko musango. Era nti Katonda agaanyi okunsalira obutuufu. Newakubadde ndi mutuufu, mpitibwa mulimba. Nfumitiddwa nfe bufi, newakubadde nga ssiriiko musango. Yobu muntu wa ngeri ki? Anywa obunyoomi nga bw'anywa amazzi. Atambulira awamu n'abakola ebitali bya butuukirivu, Era atambulira awamu n'abasajja ababi. Kubanga agambye nti, ‘Omuntu tekiriiko kye kimugasa okugoberera atonda.’ Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera. Tekiyinzika n'akatono Katonda okukola obubi. Era Omuyinza w'ebintu byonna, okukola ebitali bya butuukirivu. Kubanga alisasula buli muntu empeera, nga bwe yakola. Era nga buli muntu amakubo ge bwe gali. Mazima, Katonda taakolenga kibi, Era Omuyinza w'ebintu byonna taasalirizenga nsonga. Ani eyamuteresa ensi okugikuuma? Oba ani eyateekateeka buli kintu nga bwe kiri? Singa Katonda asalawo okweddiza omwoyo gwe, N'omukka, ebiwa obulamu, Byonna ebirina omubiri byandizikiridde, Abantu ne badda mu nfuufu. Kale oba olina okutegeera, wulira kino: Wuliriza ebigambo byange. Akyawa eby'amazima ayinza okufuga? Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi omusango okumusinga? Ani agamba Kabaka, nti, ‘Togasa,’ ‘Togasa,’ Oba abakungu nti, ‘Mmwe muli babi?’ Oyo teeyeekubira ku ludda lw'abafuzi, Ayisa kyenkanyi abagagga n'abaavu. Kubanga bonna ye ya batonda. Bafa mu kaseera buseera, mu matumbi g'obudde. Abantu banyeenyezebwa ne babulawo. N'ab'amaanyi baggibwawo nga tewali abakuttenako. Kubanga amaaso ge gatunuulira amakubo ag'omuntu, Era alaba okutambula kwe kwonna. Tewali kisiikirize wadde ekizikiza ekikutte, Abakola ebitali bya butuukirivu we bayinza okwekweka. Katonda teyeetaaga kumala kulaalika muntu, Atuuke mu maaso ge okusalirwa omusango. Teyeetaaga kumala kubuuliriza alyoke amenyeewo abasajja ab'amaanyi, N'okussaawo abalala mu kifo kyabwe. Nga bw'amanyi bye bakola, Era abavuunika kiro n'abazikiriza. Abakubira mu maaso g'abantu, Ng'abalanga ebibi byabwe. Kubanga balekayo okumugoberera, Tebassaayo mwoyo ku biragiro bye. N'okutuusa ne batuusa gy'ali okukaaba kw'omwavu, N'awulira okukaaba kw'abo ababonyaabonyezebwa. Bw'asalawo obutabaako ky'akola, kale ani ayinza okumusalira omusango okumusinga? Bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumulaba? Ne bwe liba ggwanga oba nga muntu. Omusajja atatya Katonda amuziyiza okufuga, Waleme kubaawo asuula bantu mu katego. Waliwo eyali agambye Katonda, nti: ‘Mbonerezebbwa, sikyaddamu kusobya. Njigiriza Kye ssiraba. Oba nga nnakola ekibi sikyaddamu kukikola.’ Nga bwowakanya Katonda ye ky'akola, olowooza ayinza okukola gwe ky'oyagala? Awo ggwe olina okusalawo, sso si nze. Kale yogera ekyo ky'omanyi. Abantu abalina okutegeera bajja kuŋŋamba, Na buli muntu ow'amagezi ampulira, anaŋŋamba nti, ‘Yobu ayogeza butamanya, N'ebyayogera temuli magezi.’ Yobu awozesebwe mu bujjuvu, Kubanga ayanukula ng'abantu ababi. Kubanga ku bibi bye, ayongerako obujeemu. Anyooma Katonda ng'asinziira wakati mu ffe, n'ayogera obutamala okuwakanya Katonda.” Awo Eriku n'addamu n'agamba nti, “Olowooza kituufu ggwe okugamba nti, ‘Siriiko musango mu maaso ga Katonda?’ N'okubuuza n'obuuza Katonda nti, ‘Ekibi kyange kikukosa kitya? n'obutakola kibi bungasiza ki?’ Nja kukuddamu, Wamu ne mikwano gyo. Tunuulira eggulu, olabe. Era tunuulira eggulu olabe ebire ebyewanise waggulu ennyo. Bw'oyonoona, omukolako kabi ki? Ebibi byo bwe byeyongera obungi, bimukolako ki? Bw'obeera omutuukirivu oba omuyamba ki? Oba kiki kya kufunako? Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe. N'ebirungi by'okola gwe biyamba. Olw'okujoogebwa okungi ennyo abantu bakaaba. Bakaaba bafune abayamba okubalokola mu omukono ogw'ab'amaanyi. Naye tewali agamba nti, ‘Katonda Omutonzi wange ali ludda wa, Asobozesa abantu okuyimba nga bali mu kaseera akazibu. Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi, Era atuwa amagezi okusinga ebinyonyi eby'omu bbanga.’ Kale bakaaba, naye Katonda tabaddamu, Kubanga bamalala era babi. Mazima Katonda taawuliriza bigambo bitaliimu, Omuyinza w'ebintu byonna tabissaako mwoyo. Kale olwo anaawulira atya bw'ogamba nti tomulaba? Era bw'ogamba nti omusango gwo guli mu maaso ge, naawe omulindirira? Era kaakano oba nga tabonerezza na busungu bwe, Era tassaayo nnyo omwoyo ku bibi, Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu nsa, Ayongera kwogera bigambo byatamanyi.” Era nate Eriku ne yeeyongera n'agamba nti; “Ogira oŋŋumiikiriza mmale okukunnyonnyola, Kubanga nkyalinayo kye njagala okwogera ku lwa Katonda. Okumanya kwange nkujja wala, Okutegeeza nti omutonzi wange mwenkanya. Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba: Omuntu alina okumanya okujjuvu ye ali naawe. Katonda wa maanyi, era tanyooma muntu yenna. Talina kyatategeera. Taleka babi kuba bulamu, Nabanyigirizibwa abawa ebibagwanidde. Taggya maaso ge ku batuukirivu, Naye ku ntebe awali bakabaka, Gy'abateeka ne bagulumizibwa emirembe gyonna. Era bwe baba nga basibiddwa mu masamba, Era nga babonyaabonyezebwa, Katonda abalaga ebibi byabwe, N'amalala gaabwe. Era aggulawo amatu gaabwe bawulire okulabula kwe, N'abalagira bave mu bibi byabwe. Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balina omukisa, Era nga basanyuka. Naye bwe batawulira, banaazikirizibwanga n'ekitala, Era banaafanga lw'obutamanya bwabwe. Naye abo abatamanyi Katonda basiba obusungu ku mutima. Ne bw'ababonereza tebamusaba kubayamba. Bafa nga bakyali bavubuka. N'enkomerero y'obulamu bwabwe ebasanga mu buswavu. Naye Katonda ayigiriza abantu ng'ayita mu kubonaabona kwabwe. Era mu buyinike bwabwe mw'aggulira amatu gaabwe. Katonda yakuggya mu kulaba ennaku, N'akuleeta mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa. N'emmeeza yo nejjula eby'okulya ebiwooma. Naye ggwe omaze okusalirwa omusango, Tokyalina walala wonna wojjulira. Waliwo obusungu, weegendereze oleme okulimbibwa obugagga. So n'enguzi ereme kukwonoona. Obugagga bwo tebukuyambe, Wadde amaanyi go gonna, okukuwonya okubonaabona. Teweegomba kiro kujja, Amawanga mwe gazikirizibwa amangwago. Weekuume oleme okukola ebibi, Kubanga okubonaabona kwo kwajja kukutangira mu ekyo. Katonda alina obuyinza bungi, Ani amwenkana mu kuyigiriza? Ani eyali amulagidde ekkubo lye? Oba ani ayinza okumugamba nti: ‘Ky'okoze si kituufu?’ Jjukira okumutenderezanga olw'ebyo bye yakola. Abantu bye batenda mu nnyimba. Abantu bonna ba biraba. Naye nga babirengerera wala. Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi; Emyaka gye tegibalika. Atwala waggulu amatondo g'amazzi, Agatonnya enkuba eva mu lufu lwe, Ebire gye biyiwa, N'etonnyera abantu mu bungi. Waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibikkibwa ku ggulu, Wadde ategeera okubwatuka kw'eggulu lye? Asaasaanya okumyansa kw'eggulu okumwetooloola. N'obuziba bw'ennyanja n'abubukkako enzikiza. Bwatyo bwaliisa abantu be N'abawa emmere nnyingi nnyo. Akwata okumyansa kw'eggulu mu kibatu kye, N'alagira kukube gy'akwolekeza. Okubwatuka kw'eggulu kulaga nti kibuyaga asembedde. N'ente zimanya nti ajja. Era n'ekyo kikankanya omutima gwange, Ne guntundugga. Muwulire okubwatuka kw'eddoboozi lye, N'okududuma okuva mu kamwa ke. Akusindika wansi w'eggulu lyonna, N'okumyansa kwe kubuna enkomerero y'ensi. Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma, Ne libwatuka n'entiisa. Liwulirwa, nga n'okumyansa bwe kugenda mu maaso. Okubwatuka kw'eddoboozi lya Katonda kwa kitalo! Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera. Kubanga agamba omuzira nti, ‘Gwa ku nsi.’ N'ekire ky'enkuba nti, ‘Tonnya n'amaanyi.’ Ayimiriza emirimu gya buli muntu, Abantu bonna be yatonda balyoke bamanye by'akola. Awo ensolo zigenda gye zekweka, Ne zibeera mu mpuku zaazo, Embuyaga n'eva mu bukiikaddyo, N'empewo n'eva mu bukiikakkono. Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira. Amazzi ne gakwata ng'ejjinja. Ajjuza amazzi ekire ekikutte. Ebire bibunya wonna okumyansa kwe. Era ebire byetooloola eno n'eri nga bw'aba abiragidde. Bikolera ku biragiro bye, Buli wantu gye biraga. Atonnyesa enkuba ku nsi, Olumu kubonereza, oluusi kulaga kisaakye. Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Siriikirira olowooze ku bikolwa bya Katonda eby'ekitalo. Omanyi Katonda bw'alagira ebire, Okumyansa ne kuvaayo mu byo? Omanyi nga ebire bwe biseeyeeya mu bbanga, Ekiraga obukulu bwa Katonda obw'ekitalo? Otuuyanira mu byambalo byo mu budde obw'ebbugumu, Ensi ng'esirise olw'embuyaga eva mu bukiikaddyo. Oyinza okubamba eggulu nga ye, Ne limasamasa ng'endabirwamu? Tuyigirize bye tuba tumugamba; Kubanga tetuliiko kye tumanyi tuli mu kizikiza. Bakimugambe nti njagala okwogera naye? Mba noonya kusaanyizibwawo? Kizibu abantu okutunula mu kitangaala ekyo ku ggulu, Embuyaga bw'emala okwerawo ebire. Mu bukiikakkono ye va okwakaayakana okuli nga zaabu. Ekitiibwa kya Katonda kitukuba entiisa! Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumusemberera. wa buyinza bungi, Mutuukirivu era mwenkanya ku kusala kwe. Abantu kyebaava bamutya. Tassa mwoyo ku abo bonna abeerowooza okuba abagezi.” Awo Mukama n'alyoka addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ey'amaanyi, n'agamba nti: Ani oyo abuuza enteekateeka zange, Ng'ayogera ebitaliimu kumanya? Kale nno weesibe ekimyu ng'omusajja, Nkubuuze, naawe onziremu. Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi? Mbuulira, oba olina okutegeera. Ani yasalawo obunene byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagipimako omuguwa? Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani yasimba ejjinja lyayo ery'oku nsonda? Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu? Oba ani eyasiba ennyanja n'enzigi, Bwe yawaguza ng'ekiva mu lubuto? Nze nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo, N'ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby'okugibikka. Nnagiteerawo ensalo yaayo, Nnenteekawo enzigi n'ebisiba. Nnenjigamba nti, Wano w'okomanga so tosukkangawo Era wano amayengo go ag'amalala we ganaaziyirizibwanga. Bukya obaawo, Wali olagidde olunaku okukya, n'emmambya okujja? Ekitangaala kibune buli kanyomero ka nsi, Kigobewo ababi beekweke? Ensi n'eryoka evaayo n'erabika, ng'eri ng'ekyambalo ekya langi ennyingi. N'ababi ekitangaala kyabwe kibaggyibwako, N'ebaziyizibwa okukola eby'obukambwe. Wali otuuse ebuziba, awali nsulo ez'ennyanja? Oba wali otambudde wansi eyo ku ntobo y'ennyanja? Waliwo eyali akulaze enzigi z'emagombe, Eziyingira mu kizikiza ebeera abafu? Wali otegedde ensi bw'eri obugazi? Nziramu oba nga byonna obimanyi. Omanyi ekitangaala gye kiva, N'ekizikiza bwe kivaawo gye kiraga? Ggwe oyinza okubiggyayo gye bibeera? Era otegeere amakubo agatuusa mu nnyumba yaabyo? Omanyi, kubanga wali muzaale mu bbanga eryo! Nga mingi emyaka gy'owangadde! Wali oyingidde mu mawanika g'omuzira? Oba wali olabye amawanika g'amayinja g'omuzira? Ge nnaterekera ebiro eby'okulabiramu ennaku, Olunaku olw'olutalo n'obulwa? Kkubo ki omusana mwe gwawukanira, Oba embuyaga z'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi? Ani yatema ku ggulu emikutu enkuba mw'eyita etonnye? Oba ekkubo ly'okubwatuka kwa laddu? Ani atonnyesa enkuba mu bitundu omutali bantu? Ne mu ddungu omutali muntu n'omu. Okufukirira ensi eyazika enkalu erekeddwa awo, emeremu omuddo omuto? Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag'omusulo? Mu lubuto lw'ani omuva omuzira? N'omusulo ogutonnyerera okuva mu ggulu, ani aguzaala? Amazzi gafuuka amakalubo ng'ejjinja, Ne gakwata kungulu ku nnyanja. Oyinza okusiba ekikuukuulu kya Kakaaga, Oba okusumulula olukoba lw'Entungalugoye? Oyinza okufulumya emmunyeenye mu ntuuko zaazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Nabaliyo n'abaana baayo? Omanyi ebiragiro ebifuga mu ggulu? Oyinza okubikozesa okufuga ne mu nsi? Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo okulagira ebire, Bikubunduggulireko amazzi? Oyinza okuyita ebimyanso by'eggulu, Ne bikuyitaba nti, Ffe tuutuno? Ani eyateeka mu bire amagezi, Ag'okutonnyesa enkuba? Ani ayinza okukozesa amagezi ge okubala ebire? Oba ani ayinza okuttulula amaliba g'omu ggulu ago, Enfuufu bw'ekulukuta n'efuuka ettosi, ebitoomi ne bye kwata. Onooyiggira empologoma enkazi omuyiggo? Oba onooliisa empologoma ento ozikkuse, Bwe zeebaka mu mpuku zaazo, Oba bwe zibwama mu bisaka okuteega? Ani aliisa bannamuŋŋoona emmere, Abaana baabyo bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula okunoonya emmere? Omanyi ebiseera embulabuzi ez'omu nsozi mwe zizaalira? Oba wali weetegerezza empeewo bw'ezaala? Oyinza okubala emyezi gye zimala n'amawako? Oba omanyi ebiseera mwe zizaalira? Lwe zifukamira ne zizaala abaana baazo, Ne ziryoka ziwona obulumi? Abaana baazo bafuna amaanyi, ne bakulira ebweru ku ttale. Bagenda ne batakomawo we ziri. Ani eyata entulege ebe ya ddembe? Oba ani eyagiyimbula etambule nga bw'eyagala? Nze n'agiwa eddungu okuba amaka gaayo, N'ensi ey'omunnyo okuba ekifo w'ebeera. Teyagala luyoogaano olw'omu kibuga, So tewulira kuleekaana kwa mugobi. Ensozi bwe zenkana obugazi lye ddundiro lyayo, Era enoonya buli kintu ekibisi ky'erya. Embogo enekkirizanga okukuweereza? Oba erisulako awali ekisibo kyo? Oyinza okusiba embogo olukoba ogirimise? Oba ekusikire enkumbi ekulimire mu bisenyi? Onoogyesiganga kubanga amaanyi gaayo mangi? N'ogirekera omulimu gw'eneekukolera? Onoogyesiganga okukomyawo ewuwo ensigo zo, N'okukuŋŋaanyanga eŋŋaano ey'omu gguuliro lyo? Ebiwaawaatiro bya maaya ebizanyisa ng'esanyuse, Naye ebiwaawaatiro byayo n'ebyoya byayo biba n'ekisa? Kubanga aleka amagi gaayo ku ttaka, N'egabugumizibwa omusenyu, Ne yeerabira ng'ekigere kiyinza okugabetenta, Oba ensolo ey'omu nsiko eyinza okugalinnyirira. Eyisa bubi abaana baayo nga betazaala, N'eraga nti tefaayo kuteganira bwereere. Kubanga nze ssagiwa magezi, Era ssagiwa kutegeera. Naye bw'etandika okudduka, Temanya mbalaasi n'oyo agyebagala. Ggwe wawa embalaasi amaanyi gaayo? N'oyambaza obulago bwayo olugiŋŋirima lw'ekankanya? Ggwe ogibuusa ng'enzige, N'eba n'okufugula okw'entiisa. Etakulira mu kiwonvu, n'esanyukira amaanyi gaayo. Efubutuka okulumba abasajja abakutte eby'okulwanyisa. Temanyi kiyitibwa kutya. So tedda mabega olw'ekitala. Omufuko guwulungutira ku yo, Effumu erimasamasa n'akasaale. Efukula ettaka n'efuumuka emisinde mu busungu obungi, Tetereera ng'ewulidde eŋŋombe. Eŋŋombe buli lwe vuga, n'efugula nti, “Otyo!” N'ekonga olutalo ng'ekyali wala, Ng'ewulira okuleekaana kw'abaduumizi. Ggwe oyigiriza magga okutumbiira, N'abamba ebiwaawaatiro bye, ayolekere obukiikaddyo? Ggwe olagira empungu okulinnya, N'ekola ekisu kyayo waggulu mu nsozi? Ebeeramu mpompogoma ze nsozi empanvu, N'ekola eyo amaka gaayo. Erengera omuyiggo gwayo ng'esinzira eyo. Amaaso gaayo gagulengerera wala. Abaana baayo banywa musaayi. Era awali ekifudde yo weebeera. Mukama era n'agamba Yobu nti: “Anoonya ensobi anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda anziremu. Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama nti, Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Kansirike busirisi. Njogedde omulundi gumu, sijja kuddamu. Oba emirundi ebiri, naye sijja kwongera kwogera. Awo Mukama n'addamu Yobu ng'asinziira mu mbuyaga ey'amaanyi, n'agamba nti: Weesibe nno ekimyu ng'omusajja, Nange nkubuuze, onziremu. Ogezaako kukyusa ensala yange? Ggwe onsalira nze omusango ggwe obeere omutuufu? Wenkana nange amaanyi? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi eriri ng'eryange? Kale yimirira nga weetimbye obukugu n'amalala. Yambala ekitiibwa n'obukulu. Fuka obusungu bwo obusukkiridde, Otunuulire buli muntu ow'amalala omutoowaze Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira. Bavumbike bonna wamu mu nfuufu. Basibire mu kifo ekikwekeddwa. Kale nange nnakutendereza, Nti obuyinza bwo buyinza okukulokola. Laba nno, envubu gye nnatonda nga bwe nnatonda ggwe, Erya omuddo ng'ente. Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, Ne mu binywa eby'omu lubuto lwayo. Ekakanyaza omukira ne gw'esimba ng'omuvule. Ebinywa by'amagulu gaayo by'amaanyi. Amagumba gaayo galiŋŋaanga enseke ez'ekikomo, Amagulu gaayo galiŋŋaanga emitayimbwa. Y'esooka mu nsolo zonna ze nnatonda. Ye yekka eyagitonda ya yinza okugisembereza n'ekitala kye. Naye ensozi zigizaalira eby'okulya, Ensolo zonna ez'omu nsiko gye zizannyira. Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Yeekweka mu bitoogo, mu lutobazzi. Ewummulira mu bisiikirize by'obuti obw'amaggwa. Emyerebu gy'obugga gigyetooloola. Omugga bwe gwanjaala, tetya. Eguma omwoyo, Yoludaani ne bwe gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo. Waliwo ayinza okugikwata bw'eba ng'etunula, Oba ayinza okugikwasa ku mutego n'ogifumita ennyindo zaayo?” Oyinza okuvuba egoonya n'eddobo? Oba okusiba olulimi lwayo n'omuguwa? Oyinza okuyingizanga omuguwa mu nnyindo zaayo? Oba okuwummulanga oluba lwayo n'eddobo? Eneekwegayiriranga ogikwatirwe ekisa? Oba n'eyogera naawe bulungi ogireke? Eneekola naawe endagaano, Ekuweerezenga emirembe gyonna? Onoozannyanga nayo nga bw'ozannya n'ekinyonyi? Oba onoogisibiranga abaweereza bo abawala ebasanyuse? Abavubi banaagiramuzanga? Abasuubuzi banaagitemaatemanga okugitunda? Oyinza okugifumita effumu ne liyita mu ddiba lyayo? Oba omutwe gwayo n'ogufumita emiwunda egiswaga ebyennyanja? Giteekeko omukono gwo, on'olaba, Tolyerabira lutalo, tolikiddira. Okugiraba obulabi omuntu agwamu amaanyi, Agwa bugwi ku ttaka. Tewali aba na buvumu bwa kusaggula goonya. Kale aluwa oyo ayinza okuyimirira mu maaso gange? Ani eyasooka okumpa, nange mmusasule? Byonna ebiri wansi w'eggulu byange. Siireme kwogera ku magulu gaayo, Ne ku amaanyi gaayo, ne ku nkula yaayo ennungi. Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky'okungulu? Ani ayinza okugifumita n'ayita mu ddiba lyayo ery'embu ebbiri? Ani ayinza okwasamya akamwa kaayo? Amannyo gaayo nga ga ntiisa! Amagalagamba gaayo ag'amaanyi ge gagyewuliza. Gasibaganye ng'akabonero ak'envumbo. Erimu lyegatta linnaalyo, Ne watasigala kaagaanya empewo weyinza okuyita. Geegatta ne gakwatagana, Nga tegayinza gatayinzika kwawulibwa. Okwasimula kwayo, kuleeta ekitangaala. N'amaaso gaayo gamyuka nga enjuba evaayo. Akamwa kaayo kavaamu emimuli egyaka, Kabuukamu ensasi ez'omuliro. Mu nnyindo yaayo muvaamu omukka, Ng'oguva mu ntamu etokota, ne mu kisaalu ekyaka. Omukka gw'essa gwasa amanda, Era ennimi ez'omuliro ziva mu kamwa kaayo. Ensingo yaayo erimu amaanyi, N'entiisa buli agya mu maaso gaayo. Emiwula gy'ennyama yaayo gye kutte, Tegirebera. tegisagasagana. Omutima gwayo mugumu ng'ejjinja; Ddala mugumu ng'olubengo. Bw'esituka bweti, ab'amaanyi batya, Beekanga ne babulwa eky'okukola. Bwe bagisimbako ekitala, tekiriiko kye kiyinza kukola. Effumu, omuwunda wadde akasaale tebisobola kugikolako kintu kyonna. Ekyuma kiringa kisasiro, N'ekikomo kiringa omiti ogw'empumbu. Akasaale tekayinza kugiddusa. Amayinja g'evuumuulo gaba nga bisusunku ku yo. Embuukuuli y'omuggo nayo ku yo kisusunku. Esekerera amafumu ge bakasuka okugifumita. Amagalagamba g'oku lubuto lwayo gali ng'engyo ez'obwogi. Bweyeekulula mu bitosi eba ng'ekyuma ekiwula. Bw'eyefubitika ennyanja esiikuula amazzi ne gaba ng'entamu etokota; Efaananya ennyanja ng'akasaka omweserera omuzigo. Weeyise erekawo omukululo gw'amayengo ameeru. Nefaananya obuziba okuba n'envi. Tewali kintu kigyenkana ku nsi, Yatondebwa teriimu kutya. Enyooma buli kisolo eky'amalala. Ye kabaka w'ensolo zonna ez'amalala. Awo Yobu n'addamu Mukama ng'agamba nti: Mmanyi nga ggwe oyinza byonna, Era nga tewali kigambo kye wateesa ekiyinza okuziyizibwa. Wabuuziza nti, “Ani oyo aziyiza okuteesa kwo ng'ayogeza obutamanya?” Mazima nayogedde ku bintu bye sitegeera, Eby'ekitalo ebyannemye okumanya. Oŋŋambye nti, Wuliririza njogere, Nkubuuze, naawe onziremu. Nnawuliranga buwulizi bye bakwogerangako, Naye kaakano nkulaba na maaso gange. N'olwekyo menyese ne nneenenya Mu nfuufu n'evvu. Awo Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, n'agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkusunguwalidde nnyo ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko bigambo by'amazima, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde. Kale nno kaakano mutwale ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa. Omuddu wange Yobu abasabire. Kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe busaaanira, kubanga temunjogeddeeko bigambo bituufu ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.” Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda, ne bakola nga Mukama bw'abalagidde. Mukama n'akkiriza Yobu bye yabasabira. Awo Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye, Mukama n'amuddizaawo obugagga bwe, yamuwa emirundi ebiri okusinga bye yalina olubereberye. Awo baganda be bonna ne bannyina bonna, n'abo bonna be yamanyagananga edda, ne bajja ne baliira wamu naye ekijjulo mu nnyumba ye. Ne bamusaasira olw'obubi bwonna Mukama bwe yamutuusaako. Buli omu ku bo n'amuleetera ekitundu ekya ffeeza, n'empeta eya zaabu. Awo Mukama n'awa Yobu omukisa mu kiseera ky'obulamu bwe ekyasembayo, okusinga kiri ekyasooka. Yobu n'aba n'endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya (14,000), n'eŋŋamira kakaaga (6,000), n'emigogo gy'ente lukumi (1,000), n'endogoyi enkazi lukumi (1,000). Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu. Omuwala asooka n'amutuuma Yemmima, ow'okubiri n'amutuuma Keeziya, n'ow'okusatu n'amutuuma Kerenukappuki. Mu nsi yonna tewali bakazi balungi okwenkana abawala ba Yobu. Kitaabwe n'abawa omugabo gw'obusika wamu ne bannyinaabwe. Awo oluvannyuma lw'ebyo, Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana (140), n'alaba batabani be, n'abazzukulu okutuuka ku bannakasatwe. Awo Yobu n'afa nga mukadde, ng'awangadde emyaka mingi nnyo. Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula mu ntebe z'abanyooma. Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa, Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro. Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaagwo. Amalagala gaagwo tegawotoka, Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa. Naye ababi si bwe bali, Bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula. Ababi kyebaliva balema okugumira omusango, Newakubadde abalina ebibi okubeera mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu. Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu, Naye ekkubo ly'ababi liribula. Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga, N'abantu kiki ekibalowoozesa ebitaliimu? Bakabaka ab'ensi bateekateeka, N'abafuga bateesezza ebigambo wamu, Ku Mukama ne ku Masiya we nga bagamba nti, “Ka tukutule enjegere zaabwe, Tweggyeko ekikoligo kyabwe.” Atuula mu ggulu abasekerera, Mukama alibaduulira. Aliyogera nabo ng'asunguwadde, N'abatiisa ng'aswakidde. “Nnateeka kabaka wange Ku lusozi lwange olutukuvu, Sayuuni.” Nja kulangirira ekiragiro kya Mukama, Mukama yaŋŋamba nti, “Ggwe oli mwana wange, Olwa leero nkuzadde.” Nsaba nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, N'ensi yonna okubeera eyiyo. Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma; Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi. Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka, Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi. Muweereze Mukama n'okutya, N'okukankana. Munywegere omwana, aleme okusunguwala, si kulwa nga muzikirizibwa, Kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Ba mukisa abo bonna abamweyuna. Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde! Abayimuka okunnumba bangi. Bangi abanjogerako nga bagamba nti, “Katonda taamuyambe.” Naye ggwe, Ayi Mukama, oli ngabo enkuuma. Gwe Kitiibwa kyange, era ampanirira. Nkoowoola Mukama, N'anziramu ng'asinziira ku lusozi lwe olutukuvu. Ngalamira ne nneebaka, Ne nzuukuka, kubanga Mukama ampanirira. Sitya nkumi na nkumi z'abalabe, Abanneetooloola okunnumba. Yimuka, Ayi Mukama, ondokole, Ayi Katonda wange: Kubanga okuba abalabe bange bonna ku ttama, N'omenya amannyo g'ababi. Obulokozi buva eri Mukama, omukisa gwo gubeere ku bantu bo. Onziremu, Ayi Katonda bwe nkukoowoola. ow'obutukirivu bwange, Wansumulula bwe nnali mu nnaku, Onsaasire, owulire okusaba kwange. Mmwe abantu, mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba? Naye mutegeere nga Mukama yeeyawuliddeko abamutya okuba ababe. Mukama ampulira bwe mukoowoola. Bwe munyiiga, temwonoona. Musiriikirire, mufumiitirize mu mitima gyammwe ku bitanda byammwe. Muweeyo ssaddaaka ezisaanira, Era mwesige Mukama. Waliwo bangi abagamba nti, “Ani alitulaga ebirungi? Ayi Mukama, tutunuulire n'ekisa.” Otadde essanyu mu mutima gwange, Okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe. Ngalamira ne nneebaka mu mirembe, Kubanga, Ayi Mukama, ggwe onkuuma ne sitya. Wulira ebigambo byange, ayi Mukama, Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange. Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange. Kubanga ggwe gw'ensaba. Ayi Mukama, buli nkya onoowuliranga eddoboozi lyange. Buli nkya nnaakusabanga, ne nnindirira ky'onoonziramu. Kubanga toli Katonda asanyukira obubi, Tokkiriza bitasaana mu maaso go. Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go, Okyawa bonna abakola ebibi. Ozikiriza aboogera eby'obulimba; Mukama akyawa abantu abatta n'abalimba. Naye nze, olw'ekisa kyo ekingi, nnaayingiranga mu nnyumba yo. Naasinzanga nga njolekera Yeekaalu yo entukuvu. Ayi Mukama onkulembere nkole by'oyagala, kubanga abalabe bange bangi. Ndaga bulungi ekkubo lyo. Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa, Balowooza kukola bubi, Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde, Boogera bya bukuusa. Basseeko omusango, Ayi Katonda. Leka bagwe mu mitego gyabwe bo, Babonereze olw'okwonoona kwabwe okungi, Kubanga bakujeemedde ggwe. Naye bonna abakwesiga ggwe basanyuke, Bayimbenga n'essanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma. N'abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe. Kubanga Ayi Mukama owa omukisa abatuukirivu. Ekisa kyo kibeetooloola ng'engabo. Ayi Mukama, tonnenya ng'osunguwadde, Era tombonerereza mu busungu. Onsaasire, ayi Mukama; kubanga amaanyi gampweddemu. Ayi Mukama, mponya, kubanga amagumba gange gankubagana. Omwoyo gwange gweraliikiridde nnyo, Naye, ayi Mukama, olimala bbanga ki olyoke onnyambe? Komawo, ayi Mukama, ondokole, Omponye olw'ekisa kyo. Kubanga abafu tebakujjukira. Ani alikutenderereza emagombe? Okusinda kunkooyezza. Buli kiro nkulukusa amaziga nga ndi ku kitanda kyange, Obuliri bwange bwonna ne mbutobya amaziga. Amaaso gange gazimbye olwo kukaaba ennyo, Gankambagga olw'abalabe bange bonna abankaabya. Muve we ndi, mwenna abakola ebibi, Kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange. Mukama awulidde okwegayirira kwange, Mukama akkiriza okusaba kwange. Abalabe bange bonna baliswala ne basoberwa. Balivaawo mangu nga baswadde! Ayi Mukama, Katonda wange, gwe buddukiro bwange, Ndokola, omponye bonna abanjigganya, Baleme kuntaagula ng'empologoma, N'empalulwa nga tewali anaamponya. Ayi Mukama, Katonda wange, oba nga nnakola ekintu nga kino: Nga nnayonoona, Oba nga nnakola mukwano gwange obubi, Oba okulumya omulabe wange awatali nsonga, Kale omulabe wange anjigganye era ankwate, Anninnyiririre wansi mu ttaka anzite, Andeke nga ngalamidde mu nfuufu. Yimuka, ayi Mukama, mu busungu bwo, Weesimbewo olwanyise abalabe bange abakambwe. Golokoka Katonda wange, osalewo mu bwenkanya. Leeta abantu bonna bakungaane bakwetooloole, Obafuge ng'osinzira waggulu. Ayi Mukama, asalira abantu bonna omusango, Sala omusango gwange nsinge, kubanga omanyi nga siriiko musango. Gwe Katonda omutuukirivu akebera emitima n'ebirowoozo, komya okwonoona kw'ababi, Onyweze abatuukirivu. Katonda ye ngabo mwe nneewogoma, Alokola abalina omutima ogw'amazima. Katonda ye musazi w'emisango omutuukirivu, era bulijjo asunguwalira ababi. Omuntu bw'atakyuka neyeenenya, Katonda ajja kuwagala ekitala kye. Aleeze omutego gwe, okulasa akasaale. Era amuteekeddeteekedde ebintu ebirimutta, Ayengerezza obusaale bwe. Laba, omubi alowooza okukola ekibi, Ajjudde ettima, era ayogera eby'obulimba. Obunnya bw'asima n'awuukuula, Ye abugwamu yennyini. Ettima lye limuddira, N'obukambwe bwe bulumya ye yennyini. Neebazanga Mukama olw'obutuukirivu bwe. Nnaayimbanga okutendereza erinnya lya Mukama ali waggulu ennyo. Ayi Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu. Liyimbibwa abaana abato n'abayonka. Oziyiza abalabe, N'abo abagala okukola obubi bannaabwe. Bwe ntunuulira eggulu lye wakola, Omwezi n'emmunyeenye, bye wateekawo, Omuntu kye kiki, ggwe okumulowoozako? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumufaako? Kubanga wamukola, n'abulako akatono okuba nga ggwe Katonda. Era wamutikkira engule ey'ekitiibwa n'ettendo. Wamuwa okufuga ebintu byonna bye wakola. Wateeka ebintu byonna mu buyinza bwe: Endiga zonna n'ente, Era n'ensolo ez'omu nsiko. Ennyonyi ez'omu bbanga, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja. N'ebitonde ebirala ebiri mu nnyanja. Ayi Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Nnakwebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Nnaatenderezanga ebikolwa byo byonna eby'ekitalo. Nnaasanyukanga nnaajagulizanga mu ggwe. Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo. Bw'olabika, abalabe bange badda emabega, bagwa ne bazikirira mu maaso go. Kubanga ggwe wayingira mu nsonga yange, nemu bigambo byange. Watuula ku ntebe, ng'osala omusango mu bwenkanya. Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe. Abalabe baffe baggweerawo ddala. Ebibuga byabwe wabimenya n'obisaanyaawo. Era ne beerabirirwa ddala. Naye Mukama ye Kabaka emirembe egitaggwaawo: Yateekawo entebe ye kw'alisalira emisango. Afuga ensi yonna mu butuukirivu, Asalira omusango amawanga gonna mu mazima. Mukama kye kiddukiro Ky'abo abayigganyizibwa, Ekiddukiro mu biro eby'ennaku. N'abo abakumanyi banaakwesiganga, Kubanga ggwe, Mukama, toleka bakunoonya. Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni. Mubuulire ebikolwa bye mu bantu. Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira, Teyeerabira kukaaba kw'abaavu. Onsaasire, ayi Mukama. Laba abankyaye bwe bambonyaabonya. Mponya okuva mu kufa. Ndyoke mbuulirenga abantu ettendo lyo lyonna, Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Nnaasanyukiranga obulokozi bwo. Amawanga gagudde mu bunnya bwe gaasima, Bakwatiddwa mu mutego gwe baatega. Mukama yeeragidde mu ngeri gy'asalamu emisango, Ababi bakwatiddwa mw'ebyo bo bennyini bye bakola. Ababi baakugenda emagombe. Wamu n'amawanga gonna ageerabira Katonda. Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna, N'essuubi ery'abawombeefu teriibabulenga emirembe gyonna. Yimuka, ayi Mukama, Abantu bo balemenga okukunyooma. Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go. Obatiise, ayi Mukama, Amawanga geetegeere nga bantu buntu. Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ayi Mukama? Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku? Ababi mu malala gaabwe bayigganya abaavu, Leka bakwatibwe bo bennyini mu mitego gye bateze. Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'ow'omululu yeegaana Mukama era amunyooma. Omubi mu malala ge tanoonya Mukama, Alowooza nti, “Tewali Katonda.” Buli ky'akola kimugendera bulungi. Okusala kwo okw'emisango kuli waggulu nnyo takutegeera. Abalabe be bonna abanyooma. Agamba mu mutima gwe nti, “Sirisagaasagana. Siriraba nnaku emirembe gyonna” Akamwa ke kajjudde okukolima, okulimba n'okujooga. Ayanguwa okwogera eby'ettima n'ebitali bya butuukirivu. Yeekweka n'atuula ng'ateeze mu byalo, Eyo gy'attira abatalina misango. Aliimisa alabe abateeyinza. Yeekweka n'ateega ng'empologoma mu mpuku yaayo. Yeekisa okukwata omwavu, N'amukwatira ddala omwavu, n'amuwalurira mu kitimba kye. Akutama, n'akootakoota ku ttaka, N'avumbagira abanafu n'amaanyi ge gonna. Agamba mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, Yeebise ku maaso, tagenda kukiraba.” Yimuka, ayi Mukama, ayi Katonda, Teweerabira mwavu. Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'agamba mu mutima gwe nti, “Tajja kunvunaana?” Naye ggwe olaba; otunuulira ettima n'obukyayi, weetegese okuyamba. Ateesobola yeewaayo gy'oli, Bulijjo bamulekwa ggwe obayamba. Malamu omubi amaanyi, Omalirewo ddala ebibi bye. Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe. Amawanga agatamusinza gakuzikirizibwa mu nsi ye. Ayi Mukama, wawulira abawombeefu bye bakusaba, onyweze omutima gwabwe, era obawulirize. Onoolamulanga abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa mu bwenkanya. Abantu obuntu balemenga kubatiisatiisanga. Mu Mukama mwe muli ekiddukiro kyange. muyinza mutya okuŋŋamba nti, “Buuka ng'akanyonyi olage mu nsozi?” Kubanga, laba, ababi bateze omutego, Batadde obusaale ku buguwa, Balasize mu nzikiza abalina omutima ogw'amazima. Oba nga emisingi girizikirizibwa, Kiki omutuukirivu ky'ayinza okukola? Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu, Entebe ye eri mu ggulu. Amaaso ge galaba abaana b'abantu, yeetegereza bye bakola. Mukama agezesa abatuukirivu n'ababi. Naye akyawa oyo ayagala obutabanguko. Ababi abayiwako amanda g'omuliro n'obuganga. Ababonereza n'empewo eyokya ennyo. Kubanga Mukama mutuukirivu, ayagala ebikolwa ebirungi. Abatuukirivu baliraba amaaso ge. Yamba, Mukama; kubanga abatya Katonda baggwaawo, ab'amazima bakendeera mu bantu. Balimbagana ne bawaanagana mu bukuusa, Boogera n'emitima ebiri. Mukama sirisa aboogera eby'okwenyumiriza, Aboogera eby'okwegulumiza. Aboogera nti, “N'olulimi lwaffe ge maanyi gaffe, Tujja kwogera buli kye twagala, ani ayinza okutuziyiza?” Kubanga abaavu banyagibwako ebyabwe, abali mu bwetaavu basinda, Kaakano nnaayimuka, Mukama bw'ayogera. Nnaamuteeka mu bukuumi bwe yeegomba. Mukama by'asuubiza bya mazima, Biri nga ffeeza eyisiddwa mu kyoto ky'omuliro, Erongooseddwa emirundi omusanvu. Ayi Mukama, tukuumenga bulijjo, Otuwonye ababi ab'omulembe guno. Ababi babunye buli wantu, N'obugwagwa bwe bugulumizibwa mu bantu! Ayi Mukama, Olituusa wa? Onoonneerabira emirembe gyonna? Olituusa wa okunneekweka? Ndituusa wa okweraliikiriranga, N'okuwulira obuyinike mu mutima gwange obudde okuziba? Omulabe wange alituusa wa okunneegulumiririzaako? Lowooza onziremu, ayi Mukama Katonda wange. Nzizaamu amaanyi, nneme okufa. Omulabe wange alemenga okugamba nti, “ Mmuwangudde. Abankyawa baleme okujaganya nga nterebuse. Naye nze nneesize okwagala kwo okutajjulukuka. Omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo. Nnaayimbiranga Mukama, Kubanga ankoledde ebirungi bingi.” Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonese, bakoze ebikolwa eby'obugwagwa, Tewali n'omu akola ekirungi. Mukama asinziira mu ggulu n'atunuulira abantu. Alabe oba nga waliwo abaategeera, Oba nga waliwo abaanoonya Katonda. Naye bonna bakyamye, bonna be bamu: boonoonyi. Tewali n'omu akola kirungi, wadde omu bw'ati. Tebalina kumanya, bonna abakola ebibi, abalya abantu bange ng'abalya emmere, Era abatakoowoola Mukama? Baliba mu kutya okungi, Kubanga Katonda ali wamu n'abatuukirivu. Ababi balemesa omwavu okutuukiriza enteekateeka ze, Naye Mukama kye kiddukiro kye. Singa obulokozi bwa Isiraeri buvudde mu Sayuuni! Mukama bw'alizzaawo emirembe mu bantu be, Yakobo alisanyuka, Isiraeri alijaguza. Ayi Mukama, ani anaatuulanga mu weema yo? Ani anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu? Ye oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Ayogera eby'amazima mu mutima gwe. Era atawaayiriza. Mukwano gwe tamukola kabi, Era tasaasaanya ŋŋambo ku muliraanwa we. Amaaso ge ganyooma omubi; Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Bw'alayira ne bw'afiirwa, takyuka. Atawolera bintu bye magoba. Tagulirirwa kusaliriza atalina musango. Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna. Ayi Katonda, nkuuma, kubanga nneesiga ggwe. Ŋŋamba Mukama nti, “Ggwe oli Mukama wange, Sirina bulungi bwonna awatali ggwe.” Abatukuvu abali mu nsi, Abo be basinga obulungi, be nsanyukira okubeera n'abo. Abo abanoonyayo katonda omulala okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako. Sijja kwetabanga mu ssaddaaka ez'okuyiwa omusaayi. Era ssi yatulenga mannya ga ba katonda baabwe. Mukama, gwe mugabo gwange, gwe nnonze. Ggwe okuuma ebyange. Byonna by'ompadde birungi. Mazima omugabo gwange mulungi ddala. Neebazanga Mukama, anuŋŋaamya, Ate mu kiro emmeeme yange enjigiriza. Nkulembeza Mukama bulijjo. Kubanga andi kumpi, sisagaasagaanenga. Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'emmeeme yange n'ejaguza. Nzenna ne mbeera mu mirembe. Kubanga tolindeka mu magombe, Era toliganya Omutukuvu wo kuvunda. Olindaga ekkubo ery'obulamu. Gy'oli waliyo essanyu erijjuvu. Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe. Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ayi Mukama, lowooza ku kukaaba kwange, Tega okutu owulire okusaba kwange, okutaliimu bukuusa. Ggwe oba osala omusango nsinge, Kubanga ggwe omanyi ekituufu. Omanyi ekiri mu mutima gwange, ne bw'ojja gye ndi ekiro, Nkebera, tojja kunsangamu kibi. Sijja kwonoona n'akamwa kange. Sikola ng'abantu bwe bakola, nkwata ebiragiro byo. Neewala amakubo ag'abantu ababi. Bulijjo ntambulira mu makubo go, Sigavaangamu n'akatono. Nkukoowoola ggwe ayi Katonda, kubanga ggwe onoonziramu. Tega okutu kwo, owulire bye njogera. Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga, N'obawonya abalabe baabwe Onkuume ng'emmunye y'eriiso, Nkweka mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo, Omponye ababi abannyaga, Abalabe bange abanzingiza okunzita. Tebalina kisa, N'akamwa kaabwe boogera eby'amalala. Kaakano banzingizizza buli gye nzira, Beekaliriza, balyoke bankube wansi. Bali ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo, Era ng'empologoma ento eyeekweka n'eteega. Golokoka, ayi Mukama, Olwanyise abalabe bange, Omponye omubi ng'okozesa ekitala kyo. Ayi Mukama, mponya, Eri abantu ab'ensi, abalowooleza mu mugabo ogw'obulamu buno Embuto zaabwe ozijjuze bye wabateekerateekera, Abaana baabwe bafune ebibamala, Wafikkewo n'ebirimala abazzukulu. Naye nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu, Ndimatira bwe ndizuukuka ne nkulaba. Ayi Mukama, nkwagala, ggwe maanyi gange. Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola. Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga. Ye ngabo yange, ge maanyi ag'obulokozi bwange, ye yankuuma. Mukama asaanira okutenderezebwa: mmukoowoola n'amponya abalabe bange. Nali nneetooloddwa akabi ak'okufa, Amayengo ag'okunzikiriza ne ganjiikako. Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Emitego egy'olumbe gyankwasa. Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu Yeekaalu ye, Bye nnakaabira mu maaso ge naabiwulira. Ensi yayuuguuma, n'ekankana. Emisingi gy'ensozi gyajugumira, neginyeenyezebwa, Kubanga yali asunguwadde. Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, Omuliro ogusenkenya n'amanda agaaka, Ne biva mu kamwa ke. Yakutamya eggulu n'akka, N'ekizikiza ekikutte ennyo nga kiri wansi w'ebigere bye. Ne yeebagala kerubi n'abuuka: N'agendera mangu ku biwaawaatiro eby'empewo. Ekizikiza n'akifuula eky'okwekwekamu, ne kimukweka. Ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola. Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ne muva ebire ebikutte, Amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro. Mukama n'abwatuka mu ggulu, Eddoboozi ly'oyo ali waggulu ennyo ne liwulirwa, Ne wabaawo amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro. N'alasa obusaale bwe, abalabe be n'abasaasaanya. N'abagoba n'okumyansa okungi. Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne girabika, Mu kunenya kwo, ayi Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo. Mukama yasinziira mu ggulu, n'ankwata, N'anzigya mu mazzi amangi. Yamponya eri ommulabe wange ow'amaanyi, N'eri abo abankyawa, kubanga nze, bansinza amaanyi. Bannumba nga ndi mu buzibu, Naye Mukama ye nankuuma. Yantuusa mu kifo ekigazi, Namponya kubanga yanjagala. Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde. Kubanga n'akwata amakubo ga Mukama, Ne siva ku Katonda wange nga nkola obubi. Nnakwata ebiragiro bye byonna, Era ssaajeemera na mateeka ge. Saalina musango mu maaso ge, Nneekuuma ne sikola kibi. Mukama kyavudde ansasula, ng'obutuukirivu bwange bwe buli, Kubanga nkola ebirungi mu maaso ge. Oli mwesigwa eri oyo omwesigwa, Oli mutuukirivu eri oyo omutuukirivu. Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu; N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza. Kubanga onoolokolanga abantu, abajoogebwa, Naye nootoowaza abo abeekulumbaza. Ggwe ompa ekitangaala, Mukama Katonda wange n'omulisa mu kizikiza kyange. Ggwe onnyamba okulumba abalabe bange. Ggwe ompa amaanyi okuwangula ekigo kyabwe. Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, Ekigambo kya Mukama kya mazima, Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga. Kubanga ani Katonda, wabula Mukama? Era ani olwazi, wabula Katonda waffe? Katonda ampa amaanyi, Era akuuma ekkubo lyange. Anyweza ebigere byange ng'eby'empeewo: Ankuumira waggulu ku nsozi. Anjigiriza okulwana, Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo. Ompadde engabo ey'obulokozi bwo, N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, N'obuwombeefu bwo bungulumizizza. Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange, Siiseererenga kugwa. Ngoba abalabe bange, ne mbakwata, Sikomawo nga sinnabazikiriza. Mbakuba wansi ne batayinza kuyimukawo, Bagwa wansi w'ebigere byange. Kubanga ompadde amaanyi ag'okulwana, Obafukamizza mu maaso gange abannumba. Waleetera abalabe bange okunziruka, Abo abankyawa nnabazikiriza. Baakoowoola ow'okubayamba nga tewaali abawonya. Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu. Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbalinnyirira ng'ebitosi eby'omu nguudo. Omponyezza okwegugunga kw'abantu; Onfudde omufuzi w'amawanga. Abantu be ssaamanyanga balimpeereza. Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera. Bannaggwanga balinjeemulukukira. Bannaggwanga baliggwaawo, Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana. Mukama mulamu: olwazi lwange atenderezebwe. Agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange. Ye Katonda ampalanira eggwanga, Era awangula amawanga ngafuge. Amponya eri abalabe bange. Weewaawo, ompadde okufufuggaza abalabe bange, Omponyeza eri abantu abakambwe. Kyenaavanga nkwebaza ggwe, ayi Mukama, mu mawanga, Nnaayimbanga okutendereza erinnya lyo. Obuwanguzi abuwadde kabaka we, Era amukoledde eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe. Eggulu liraga ekitiibwa kya Katonda, N'ebiri mu bbanga byoleka omulimu gwe. Buli lunaku oluggwako lutegeeza oluddirira. N'ekiro kitegeeza kinnaakyo ekiddirira. Tebirina bigambo newakubadde olulimi, Eddoboozi lyabyo teriwulikika. Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi. Ku ggulu Katonda kwe yateeka ekisulo ky'enjuba, Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye, Era esanyuka ng'ow'amaanyi Nga etandiika olugendo lwayo. Evaayo ku ludda olumu olw'eggulu, Ne yeetooloola okutuuka ku ludda olulala. So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo. Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme. Ebiragiro bya Mukama bye sigika, biwa abatamanyi amagezi. Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima. Ekiragiro kya Mukama kitukuvu, kireeta okutegeera. Okutya Mukama kulungi, kusigalawo emirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya mazima, bya butuukirivu ddala. Bisaanira okubiyaayaanira okusinga zaabu, zaabu omulungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo. Era ebyo bye birabula omuddu wo. Okubikuuma kulimu empeera ennene. Ani ayinza okukebera ebyonoono bye? Nziggyako ebibi bibi ebikisiddwa. Nze omuddu wo onziggye mu bujeemu bwonna, Buleme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, Omusango ogw'okwonoona guleme okumbaako. Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ayi Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange. Mukama addemu okusaba kwo ku lunaku olw'obuyinike. Katonda wa Yakobo akukuume, Akuyambe ng'asinziira mu kifo ekitukuvu, Akubeere ng'asinziira mu Sayuuni. Ajjukire bye wawaayo byonna, Akkirizenga ssaddaaka yo enjokye; Akuwe omutima gwo kye gwagala, Atuukirize okuteesa kwo kwonna. Tuleekaane olw'essanyu ng'owangudde. Mu linnya lya Katonda waffe tuwanike ebendera zaffe. Mukama akuwe by'osaba byonna. Kaakano mmanyi nga Mukama ayamba oyo gwe yasiiga amafuta; Amuddamu ng'asinziira mu ggulu lye ettukuvu Olw'obuyinza bwe, amusobozesa okuwangula. Abamu beesiga amagaali, abalala beesiga embalaasi. Naye ffe twesiga maanyi ga Mukama Katonda waffe. Abantu abo balineguka ne bagwa, Naye ffe tuligolokoka ne tuyimirira. Wa kabaka okuwangula. Ayi Mukama otuddemu bwe tukoowoola. Mu maanyi go, ayi Mukama, Kabaka asanyuka, Akugulumiza nnyo, Kubanga omuyambye okuwangula. So tomummye ye yennyini ky'akusabye. Ozze gyali n'emikisa emingi ddala, N'omutikkira ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi. Yakusaba obulamu, N'omuwa okuwangaala emirembe n'emirembe. Ekitiibwa kye kingi olw'obuyinza bwo, Wamuwa ekitiibwa n'ettendo. Omufudde ow'omukisa omungi emirembe gyonna: Okubeerawo kwo kumusanyusa. Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga. Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa. Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya. Abaana baabwe olibazikiriza ku nsi, N'obamalirawo ddala mu baana b'abantu. Ne bwe baliteesa okumukolako akabi, Ne bwe balisala enkwe, tebalisobola, Kubanga olibafummuula, Olibaleegamu obusaale mu maaso, Ne bakyuka ne badduka. Ogulumizibwenga, ayi Mukama, olw'amaanyi go, Tunaayimbanga ne tutendereza obuyinza bwo. Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okunneesamba n'otonnyamba, n'otowulira kukaaba kwange? Ayi Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu! Era n'ekiro, so ssisirika. Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri. Bajjajjaffe baakwesiganga ggwe: Baakwesiganga, naawe n'obawonya. Baakukoowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi. Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu. Abantu bonna banvuma, bannyooma. Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti: “Yeesiga Mukama, kale ye amulokole: Amuwonye, kubanga amwagala.” Naye ggwe wanzigya mu lubuto lwa mmange, Ggwe wankuuma bwe nnali nga Nkyayonka. Nneesiga ggwe okuviira ddala mu kuzaalibwa kwange. Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange. Tombeera wala, kubanga akabi kali kumpi, Kubanga tewali anannyamba. Abalabe bangi banneetoolodde, Balinga zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani banzingizizza. Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaamye ewuluguma. Ninga amazzi agayiise ku ttaka, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuukidde mu kifuba kyange. Amaanyi gange gakaliridde ng'oluggyo, N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange, Ondese nfiire mu nfuufu. Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza. Bawummudde engalo zange n'ebigere byange. Nnyinza okubala amagumba gange gonna. Bantunuulira, banvulumulira amaaso. Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange. Naye tobeera wala, ayi Mukama. Ayi ggwe annyamba, yanguya okunziruukirira. Mponya ekitala, Obulamu bwange buwonye embwa. Ondokole eri empologoma, N'obulamu bwange okuva mu mayembe g'embogo. Nnaabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange, Wakati mu kibiina nnaakutenderezanga. Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga. Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri. Kubanga teyanyooma, oba obutamufaako oyo ali mu buyinike, Wadde okumukuba amabega. Naye bwe yamukoowoola, n'awulira. Ggwe ompeesa ettendo nga ndi mu kibiina ekinene. Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abakutya. Abaavu balirya ne bakkuta, Abanoonya Mukama balimutendereza, Babeerenga balamu emirembe gyonna. Amawanga gonna galijjukira ne gakyukira Mukama, N'ebika byonna eby'amawanga birimusinza. Kubanga Mukama ye kabaka, Ye yafuga amawanga. Bonna abeekulumbaza ab'ensi balimuvuunamira, ne bamusinza. N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa. Abaana abazaalibwa balimuweereza, Abantu balitegeeza ab'omulembe ogujja ebifa ku Mukama. Balibuulira obulokozi bwa Mukama, Abantu abalizaalibwa. Mukama ye musumba wange, sseetaagenga. Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto. Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu. Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye. Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna, kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa. Onteekerateekera ekijjulo nga abalabe bange balaba. Onsiize amafuta ku mutwe, ekikopo kyange kibooze. Obulungi n'ekisa kyo binaabanga nange ennaku zonna ez'obulamu bwange. Nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama emirembe gyonna. Ensi ya Mukama, n'ebigirimu byonna, Ensi yonna, n'abo abagirimu. Ye yagiteeka ku nnyanja, Ye yaginyweza ku mazzi amangi. Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu? Oyo akola ebirungi, era ow'omutima omulongoofu. Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, So teyalayiranga bya bulimba. Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa, Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe. Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya, Abanoonya amaaso go, ayi Katonda wa Yakobo. Mugguleewo emiryango, Enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala, Kabaka ow'ekitiibwa ayingire. Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow'amaanyi n'obuyinza, Mukama omuzira mu lutalo. Mugguleewo emiryango, Enzigi ez'edda ziggulirwewo ddala, Kabaka ow'ekitiibwa ayingire. Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'eggye, Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa. Gy'oli, ayi Mukama, nnyimusiza emmeeme yange. Ayi Katonda wange, nnaakwesiganga ggwe, Tondeka kuswala, Toleka balabe bange kunneewaanirako. Tewali akulindirira aliswazibwa, Baliswazibwa abo abasala enkwe ez'obwereere. Ondage amakubo go, ayi Mukama, Onjigirize empenda zo. Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize, Kubanga ggwe Katonda wange andokola, Ggwe gwe nneesiga bulijjo. Jjukira, ayi Mukama, okusaasira kwo okutaggwaawo n'ekisa kyo, Kubanga byaliwo okuva edda n'edda lyonna. Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ensobi zange, Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ayi Mukama. Mukama mulungi era wa mazima, Kyava ayigiriza ekkubo abalina ebibi. Abeetoowaze anaabaluŋŋamyanga Mu kusala omusango, Era abeetoowaze anaabayigirizanga ekkubo lye. Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abatuukiriza endagaano ye n'ebiragiro bye. Olw'erinnya lyo, ayi Mukama, Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene. Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'agwanira okukwata. Ye yennyini alifuna ebirungi, N'ezzadde lye lirisikira ensi. Omukwano gwa Mukama guli mw'abo abamutya, Era anaabalaganga endagaano ye. Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna, Kubanga ye yaggya ebigere byange mu kyambika. Onkyukire, onsaasire, Kubanga ndekeddwa bw'omu mbonaabona. Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange, Nzigya mu bibonoobono byange. Lowooza ku bunaku bwange n'okutegana kwange, Era onsonyiwe ebibi byange byonna. Laba abalabe bange, kubanga bangi, Era bankyawa n'obukambwe. Kuuma obulamu bwange, omponye, Tondeka kuswala, kubanga ggwe nneesiga. Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, Kubanga nnindirira ggwe. Ayi Katonda, nunula Isiraeri, Mu bibonoobono bye byonna. Ayi Mukama, onsalire omusango nsinge, kubanga ntambulira mu butuukirivu bwange, Era nneesiga Mukama awatali kubuusabuusa. Nkebera, ayi Mukama, ongeze, Olabe emmeeme yange n'omutima gwange. Kubanga ekisa kyo kye kinnuŋŋamya, Era ntambulira mu mazima go. Siituula wamu na bantu abalimba, Era sseetaba na bakuusakuusa. Nkyawa ekibiina ky'abo abakola obubi, Era situula wamu na babi. Nnanaaba mu ngalo zange okulaga bwe sirina musango, Nendyoka nnetooloola ekyoto kyo, ayi Mukama, Nga nnyimba oluyimba olw'okwebaza. Nnaayongeranga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo. Ayi Mukama, njagala okubeera mu nnyumba yo, N'ekifo omubeera ekitiibwa kyo. Tonzikiriza wamu n'abalina ebibi, Era wamu n'abantu abatemu. Bo bakozi ba bibi, Era bali ba nguzi. Naye nze nnaatambuliranga mu butuukirivu bwange. Nsaasira, onnunule. Nnyimiridde mu kifo ekitereevu, Nneebazanga Mukama mu kibiina ky'abantu. Mukama kye kitangaala kyange era ye mulokozi wange, ani gwe nnaatya? Mukama ya nkuuma, ani anankankanya? Abantu ababi bwe bannumba nga baagala okunzita, Be balabe bange era abankyawa, baneesittala ne bagwa. Eggye eddamba ne bwe lisiisira okunnwanyisa, Omutima gwange tegugenda kutya. Ne bwe nnumbibwa mu lutalo, Nsigala ndi mugumu. Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okumwebuuzangako mu Yeekaalu ye. Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye. Ali nkweka mu weema ye aweekusifu, Waggulu ku lwazi. Bwentyo bwe n'awangula abalabe bange abanneetooloodde. Era n'awaayo mu weema ye ssaddaaka nga nsanyuka, Ne nnyimba ne ntendereza Mukama. Wulira, ayi Mukama, okukaaba kwange, Onsaasire, onziremu. Bwe wagamba nti, “Munoonye amaaso gange,” omutima gwange gwakugamba nti, “Ggwe gwe nnaannoonyanga” Tonneekweka. Togoba muddu wo mu busungu. Ggwe obadde omuyambi wange, Tonsuula, era tondeka, ayi Katonda Omulokozi wange. Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama anandabiriranga. Onjigirizenga ekkubo lyo, ayi Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu kakubo akaterevu, Kubanga nnina abalabe bangi. Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala, Bannumba nga bampaayiriza, nga bajjudde obukambwe. Nzikiriza nti ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu. Lindirira Mukama, Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama. Ayi Mukama, Ggwe nkoowoola, Olwazi lwange, togaana kumpulira. Bw'ononsirikirira, Nja kuba ng'abo abakka emagombe. Wulira okukaaba kwange nga nkusaba onnyambe, Nga nnyimusa emikono gyange eri ekifo kyo ekitukuvu. Tontwalira mu boonoonyi, N'abo abakola ebibi, Aboogera ne bannaabwe eby'emirembe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe. Obabonereze ng'emirimu gyabwe bwe giri, era ng'obubi bwabwe bwe buli. Bawe empeera Esaanira emirimu gyabwe. Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama, Newakubadde emikono gye bye gikola, Alibamenyaamenya so talibazimba. Atenderezebwe Mukama, Kubanga awulidde bye mmusaba. Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange. Omutima gwange gumwesiga, annyamba. Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo, Nnaayimbanga okumutendereza. Mukama ge maanyi g'abantu be, Kye kinnunulo eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta. Lokola abantu bo, obawenga omukisa, Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna. Mmwe ab'omu ggulu, Mumutendereze Mukama, Muwe ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira. Mumusinze Mukama mu butuukirivu bwonna. Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi, Katonda ow'ekitiibwa abwatuka, Eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi. Eddoboozi lya Mukama lya maanyi; Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa. Eddoboozi lya Mukama limenya emivule, Mukama amenyaamenya emivule gy'omu Lebanooni. Ensozi z'omu Lebanooni azizinyisa ng'ennyana, Olusozi Siriyooni ne luzina ng'embogo ento. Eddoboozi lya Mukama livaamu ennimi ez'omuliro. Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi. Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amakoola g'amabira. Era mu Yeekaalu ye buli kintu kyogera nti, “Ekitiibwa.” Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba; Weewaawo, Mukama atuula nga kabaka emirembe gyonna. Mukama awa abantu be amaanyi. Mukama omukisa gw'awa abantu be gye mirembe. Nnaakugulumizanga, ayi Mukama, kubanga ontaasizza, N'otoleka balabe bange kunneeyagalirako. Ayi Mukama Katonda wange, Nnakukoowoola onnyambe, naawe n'omponya. Ayi Mukama, wanzigya mu magombe, Onzizizzaamu obulamu, n'omponya okukka mu bunnya. Muyimbe nga mutendereza Mukama, mmwe abatukuvu be, Mwebaze erinnya lye ettukuvu. Kubanga obusungu bwe bwa kaseera buseera, Ekisa kye kya bulamu bwaffe bwonna. Amaziga gayinza okukulukuta ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde. Nze bwe nali obulungi ne njogera nti, “Sirisagaasagana n'akatono.” Mu kisa kyo, ayi Mukama, Wali onnywezezza ng'olusozi. Naye bwe wanneekisa, ne nneeraliikirira. Ne nkukoowoola, ayi Mukama, Nenkwegayirira onnyambe. Kale onoogasibwa ki nganfudde, nga nzikiridde emagombe? Enfuufu eneekutenderezanga? Eneetegeezanga obwesigwa bwo? Wulira, ayi Mukama, onkwatirwe ekisa, Ayi Mukama, beera omubeezi wange. Ofudde okunakuwala kwange okuzina. Onzigyeko obuyinike, n'onzijuza essanyu. N'olw'ekyo, nnaayimbanga okukutendereza, siisirikenga, Ayi Mukama Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna. Ayi Mukama, ggwe buddukiro bwange, tondeka kuswala n'akatono, Ondokole mu butuukirivu bwo. Ontegere okutu kwo, yanguya okundokola. Beera gye ndi olwazi olw'amaanyi, ekigo ekya maanyi ondokole. Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye. Nzigya mu kyambika ekikwekeddwa kye banteze; Kubanga ggwe oli kiddukiro kyange. Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo: Ggwe wannunula, ayi Mukama, ggwe Katonda omwesigwa. Okyawa abo abasinza ebifaananyi ebitaliimu, Naye nze nneesiga Mukama. Nnaasanyukanga, nnaajaguzanga olw'okwagala kwo okutajulukuka, Kubanga walaba okubonaabona kwange, N'omanya obuyinike bwange. Tewandeka kukwatibwa mulabe, Wampa eddembe okutambula yonna gye njagala. Onsaasire, ayi Mukama, kubanga zinsanze! Amaaso gange gakooye olw'amaziga, nzigwereddemu ddala amaanyi. Kubanga obulamu bwange mbumaze mu buyinike. n'emyaka gyange ngiyiseemu mu kusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'obuyinike bwange, n'amagumba gange gakozze. Abalabe bange bonna bangaya, Baliraanwa bange banneenyinyala. mikwano gyange bantya, Bwe bandaba mu kkubo, banziruka. Nneerabiddwa ng'omufu, Nfuuse ng'ekibya ekyatise. Kubanga mpulira bangi nga beegeya, Ensisi ne nnetooloola. Bwe baali bateesa ebigambo ku nze, Nga basala amagezi okunzigyako obulamu bwange. Naye nze nneesiga ggwe, ayi Mukama, Njogera nti, “Ggwe Katonda wange.” Obulamu bwange buli mu mikono gyo, Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya. Tunuulira omuddu wo, Ondokole mu kisa kyo. Tondeka kuswala, ayi Mukama, kubanga nkoowoola ggwe. Ababi bakwatibwenga ensonyi, basirikenga mu magombe. Buniza emimwa gy'abalimba, Aboogera obubi ku batuukirivu bo, N'amalala n'okunyooma. Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu! Obakweka gy'oli, n'obawonya enkwe z'abantu. Obakuumira aweekusifu, ne bawona okuvumibwa. Atenderezebwenga Mukama: Kubanga andaze ekisa kye eky'ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo. Nze n'ayogera nga nnyanguyiriza nti, “Nzikiridde mu maaso go!” Naye wawulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola. Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Naye abeekulumbaza ababonereza nga bwe basaanidde. Muddemu amaanyi, mugume omwoyo, Mwenna abalina essuubi mu Mukama. Wa mukisa oyo asonyiyiddwa ekyonoono, n'aggyibwako ekibi kye. Wa mukisa oyo Mukama gw'atabalira butali butuukirivu, Ne mu mwoyo gwe nga temuli bukuusa. Bwe nnasirikiranga ekibi kyange, naggweeramu ddala amaanyi, Olw'okukaaba kwange obudde okuziba. Kubanga wambonerezanga emisana n'ekiro, Amaanyi gange ne ganzigweramu ddala ng'amazzi bwe gakalira mu kyeya. Ne nkwatulira ekibi kyange, n'obutali butuukirivu bwange ne ssibukweka. N'agamba nti, “Nnaayatulira Mukama ebyonoono byange.” Naawe n'onsonyiwa obutali butuukirivu bwange. N'olw'ekyo buli atya Katonda akusabenga ng'ali mu biseera ebizibu. Ennaku ne bw'eryalaala ng'amazzi amangi, terimutuukako. Ggwe kiddukiro kyange, onoonkuumanga mu kulaba ennaku, Nnaayimbiranga waggulu olw'okundokola. Mukama agamba nti, “Nnaakuyigirizanga ne nkulaga ekkubo ly'onooyitangamu. Nnaakubuuliriranga, ne nkulabirira.” Temuba nga mbalaasi, oba ennyumbu, ezitalina magezi, Z'oteekwa okusiba ekyuma n'olukoba okuzifuga, Awatali ebyo, tezirijja gy'oli. Ababi ba kubonaabona nnyo; Naye abo abeesiga Mukama abakuuma n'ekisa kye. Musanyukire Mukama, mujaguze, mmwe abatuukirivu: Mwogerere waggulu olw'essanyu, mwenna abalina omutima ogw'amazima. Musanyukire mu Mukama, mmwe abatuukirivu. Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima. Mumwebaze Mukama n'ennanga: Mumutendereze n'entongooli ey'enkoba ekkumi. Mumuyimbire oluyimba oluggya, Mukube entongooli n'amagezi, nga muleekaana olw'essanyu. Kubanga ekigambo kya Mukama kya mazima, N'omulimu gwe gwonna gukolebwa na bwesigwa. Ayagala obutuukirivu n'amazima: Ensi ejjudde okwagala kwe okutaggwaawo. Mukama yalagira, eggulu ne litondebwa, Ne byonna ebirimu byakolebwa na kigambo kye. Akuŋŋaanya amazzi wamu mu nnyanja, Ag'ebuziba agateeka mu materekero. Ensi yonna etyenga Mukama, Bonna abali mu nsi bamuwenga ekitiibwa. Kubanga yayogera ne kikolebwa, Yalagira ne kinywera. Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga: Adibya ebirowoozo by'abantu. Okuteesa kwa Mukama kunyweera ennaku zonna, N'ebirowoozo bye bibeerera emirembe gyonna. Lya mukisa eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo. Abantu be yalonda okuba ababe ba mukisa. Mukama asinziira mu ggulu n'alengera, N'alaba abantu bonna. Asinziira mu ntebe ey'obwakabaka, N'alaba abali ku nsi bonna. Ye yakola emitima gyabwe bonna, Yekkaanya byonna bye bakola. Kabaka tawangula lwa ggye ddene, Omutabaazi tawona lwa maanyi ge amangi. Embalaasi tegasa okuwangula, Ne bw'eba ey'amaanyi ennyo, si ye ewonya omuntu. Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubirira mu kusaasira kwe. Okubawonya okufa, N'okubakuumanga abalamu mu biseera eby'enjala. Tulindirira Mukama, Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe. Tusanyukira mu ye, Kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu. Okusaasira kwo, ayi Mukama, kubeerenga ku ffe, Nga ffe bwe tusuubirira mu ggwe. Nneebazanga Mukama mu biro byonna, Nnamutenderezanga bulijjo. Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama, Ababonaabona bawulire basanyuke. Mujje tugulumize Mukama, Tugulumize erinnya lye fenna. Nneegayirira Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna. Mumutuunulire, musanyuke, Temulikwatibwa nsonyi n'akatono. Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira, N'amulokola mu nnaku ze zonna. Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola. Mulegeeko mulabe nga Mukama bw'ali omulungi. Wa mukisa oyo amwesiga. Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be, Kubanga tebabulwa kintu abamutya, Obwana bw'empologoma oluusi bubulwa emmere ne bulumwa enjala; Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna. Mujje, baana bange, mumpulire, Mbayigirize okutya Mukama. Oyagala okunyumirwa obulamu, okuwangaala n'okufuna ebirungi? Ziyizanga olulimi lwo okwogera obubi, N'emimwa gyo obutoogeranga bya bulimba. Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga. Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, Era awulira okukaaba kwabwe. Obwenyi bwa Mukama buba ku abo abakola obubi, Alaba nti tebajjukirwenga mu nsi. Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira, N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna. Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde. Ebibonoobono eby'omutuukirivu bingi, Naye Mukama amulokola mu byonna. Akuuma amagumba ge gonna, Nekutamenyekako na limu. Obubi bulitta omubi, N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango. Mukama anunula abaddu be, So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango. Ayi Mukama, wakana n'abo abawakana nange, Lwana n'abo abalwana nange. Kwata engabo n'akagabo, Osituukiremu onnyambe. Galula effumu lyo, Eri abo abanjigganya, Oŋŋambe nti, “Nze bulokozi bwo.” Bakwatibwe ensonyi baswale, Abaagala okunzita, Bazzibwe emabega nga basobeddwa abateesa okunkola akabi. Malayika wa Mukama abagobe, Babe ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga. Ekkubo lyabwe libeemu ekizikiza n'obuseerezi. Malayika wa Mukama mw'abagobera. Kubanga bantega ekitimba, Awatali nsonga, Baasima obunnya mbugwemu. Okuzikirira kubatuukeko nga tebamanyi, N'ekitimba kye bantega kikwase bo Bennyini bazikirire. Olwo ndisanyukira Mukama, Ndijaguza olwo obulokozi bwe. N'omutima gwange gwonna ndigamba nti, “Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omunafu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu eri oyo amunyagako ebibye?” Abajulirwa ab'obulimba basituka Bannumiriza ebigambo bye ssimanyinako. Bansasula obubi ku lw'obulungi, Ne bammalamu amaanyi. Naye bo bwe baalwala, n'ayambala ebibukutu, Ne nnebonereza nga nsiiba, Ne nsaba Katonda nga nkutamizza omutwe. Nnakola nga bwe nandikoledde mukwano gwange, oba muganda wange, Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina. Naye nze bwe n'agwa ku kizibu ne basanyuka, ne bakuŋŋaana okunsekerera. Ne be simanyi, Ne banjeyereza obutasalako. Ne banduulira ng'abatatya Katonda, Ne baluma obujiji nga bansunguwalidde. Ayi Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Mponya abaagala okunzita. Obulamu bwange buwonye empologoma zino. Olwo ndikwebaliza mu kibiina ekinene, Ndikutenderereza mu bantu abangi. Abalabe bange abampaayiriza, tobakkiriza kunneewaanirako. Era abankyawa awatali nsonga, tobaganya kunyigiragana ku liiso ku lwange nga basanyuka. Kubanga teboogera bya mirembe, Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abateredde emirembe mu nsi. Bannumiriza nga baleekaana nti, “Twalaba kye wakola! Bino byonna wabiraba, ayi Mukama, tosirika busirisi. Ayi Mukama, tombeera wala. Situka, Ayi Mukama, ontaase. Osale omusango gwange, Katonda wange era Mukama wange. Sala omusango gwange, Ayi Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; Toganya balabe bange kunneewaanirako. Baleme kugamba mu mitima gyabwe nti, Otyo, tufunye kye twagala: Oyo Tumumize bugobo! Bonna abasanyukira nze okulaba akabi, bakwatibwe ensonyi baswale. Bajjule ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako. Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abo abaagala nsinge omusango. Era boogerenga bulijjo nti, Mukama agulumizibwe, Asanyuka okulaba ng'omuddu we ng'awangudde. Olwo ndirangirira obutuukirivu bwo, Ne ttendo lyo obudde okuziba.” Ekibi kyogerera mu mutima gw'omwonoonyi nti, “Tossaamu Katonda kitiibwa n'akatono.” Kubanga yeegulumiza, N'alowooza nti ekibi kye tekirirabibwa ne kikyayibwa. Ebigambo by'ayogera bibi era bya bulimba. Aleseeyo okukola eby'amagezi era ebirungi. Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye; Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi; Takyawa bubi. Ekisa kyo, Ayi Mukama, kituuka ne ku ggulu, Obwesige bwo butuuka ne mu bire. Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi engulumivu, Ennamula yo ekka ng'ennyanja ey'eddubi. Ayi Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo. Ekisa kyo, Ayi Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abantu baddukira gy'oli. Banakkusibwa emmere ennyingi gy'obawa mu nnyumba yo. Obaleka ne banywa amazzi ku mugga ogw'essanyu lyo. Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu. Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana. Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanyi, N'obulungi bwo eri abo abalina emitima emirongoofu. Toganya ab'amalala okunnumba, wadde ababi okungoba we ndi. Laba aboonoonyi bwe bagudde eri, Bameggeddwa wansi, era tebasobola kusitukawo. Toggweebwangako mirembe olw'abo abakola obubi, So tokwatibwanga buggya olw'abo abakola ebitali bya butuukirivu. Kubanga baliggwaawo mangu ng'essubi, Baliwotoka ng'omuddo ogumera. Weesigenga Mukama, okolenga obulungi, Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa. Essanyu lyo linoonyenga mu Mukama, Naye anaakuwanga omutima gwo bye gwegomba. Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; Era weesigenga oyo, naye anaakuyambanga. Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng'omusana, N'oyaka ng'omusana ogw'ettuntu. Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza. Teweeraliikiriranga abo abatuukiriza okukola ebibi, Na buli kye bakola nga kibagendera bulungi. Lekanga obusungu, n'ekiruyi, Teweeraliikiriranga. Ebyo tebivaamu kalungi konna. Kubanga abakola obubi balizikirizibwa: Naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi. Mu kaseera katono, Ababi baliba tebakyaliwo. Ne bw'olibanoonya we babadde, tolibalabawo. Naye abawombeefu balisikira ensi, Era banaagisanyukirangamu awatali kibatawaanya. Omubi yeewerera omutuukirivu, Era amutunuuliza bukambwe. Mukama asekerera ababi, Kubanga amanyi nti banaatera okuzikirizibwa. Ababi basowola ebitala, ne baleega emitego gyabwe, Okutta abaavu n'abateeyamba, N'abo abatambulira mu kkubo eddungi. Naye ebitala byabwe biritta bo bennyini. N'emitego gyabwe girimenyeka. Ebitono omutuukirivu by'alina Bisinga obugagga obw'ababi abangi. Kubanga ababi, Mukama alibamala amaanyi, Naye Mukama anyweza abatuukirivu. Mukama amanyi ennaku z'abo abatalina musango, N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna. Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi: Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga. Naye ababi balizikirizibwa, N'abalabe ba Mukama baliggwaawo ng'ebimuli eby'omu ttale. Balibula; baliggwaawo ng'omukka. Omubi yeewola, n'atasasula. Naye omutuukirivu akola eby'ekisa, agaba. Abo Mukama b'awa omukisa gwe balisikira ensi. N'abo b'akolimira balizikirizibwa. Mukama aluŋŋamya omuntu mu kkubo ettuufu, Era akuuma abo abamusanyusa. Ne bwe bagwa tebalemera wansi, Kubanga Mukama abayamba okuyimuka. Nali muto, kaakano nkaddiye, Naye sirabanga mutuukirivu Mukama gwayabulira, Wadde abaana be nga basabiriza emmere. Bulijjo akola eby'ekisa, n'awola abalala, N'abaana be babeera ba mukisa. Vvanga mu bubi, okolenga obulungi, Olwo olibeerawo emirembe n'emirembe. Kubanga Mukama ayagala ebituufu, Era tayabulira abo abamwesiga. Abakuuma emirembe gyonna. Naye ezzadde ery'omubi lirizikirizibwa. Abatuukirivu balisikira ensi, Banaagibeerangamu emirembe gyonna. Omutuukirivu ayogera eby'amagezi, Era bibaamu ensonga. Amateeka ga Katonda we gabeera mu mutima gwe, Era tagaviirako ddala. Omubi atunuulira omutuukirivu, Ng'ayagala okumutta. Naye Mukama talimuleka mu buyinza bwa mubi, Wadde okumuleka okusalirwa omusango okumusinga. Weesigenga Mukama, okwatenga ebiragiro bye, Naye alikugulumiza okusikira ensi. Era oliraba ababi bwe balizikirizibwa. Nnalaba omubi ng'alina obuyinza obungi, Era ng'agulumidde ng'omuti omuwanvu ogumeze ku ttaka eggimu. Naye bwenakomawo, laba nga takyaliwo. Namunoonya, naye ssaamulaba. Wekkaanye omuntu atalina musango, olabenga ow'amazima: Kubanga enkomerero ey'omuntu oyo mirembe. Aboonoonyi, balizikirizibwa bonna, Ezzadde lyabwe ne liggwerawo ddala. Naye obulokozi obw'abatuukirivu buva eri Mukama, Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby'okulabiramu ennaku. Era Mukama abayamba, n'abawonya: Abawonya eri ababi, n'abalokola, Kubanga bamweyuna ye. Ayi Mukama, tonnenya mu busungu bwo, Tombonereza ng'okambuwadde. Onfumise n'obusaale bwo, Onkubye ne ngwa wansi. Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo; Omubiri gwange gwonna gulwadde olw'ebibi byange. Nzitoowereddwa ebibi byange, Biri ng'omugugu omuzito ennyo. Ebiwundu byange biwunya era bivunze, Olw'obusirusiru bwange. Nfunyiddwa ne ngalamizibwa wansi, Nkaaba obudde okuziba. Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya; So temuli bulamu mu mubiri gwange. Nnyongobedde, mmenyesemenyese, Nsinda olw'obuyinike obuli mu mutima gwange. Ayi Mukama, bye njagala byonna obimanyi, N'okusinda kwange okuwulira. Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu. Amaaso gange, tegakyalaba. Mikwano gyange ne baliraanwa tebakyansemberera, olw'ebiwundu byange. Ne baganda bange banneesuula. Abaagala okunzita bantega emitego, N'abo abanjagaliza obubi banjogerera eby'ettima. Buli kiseera bansalira enkwe. Naye nze ndi nga kiggala, ssiwulira; Era ndi nga kasiru, sikyayogera. Mazima, nninga omuntu atawulira, Atasobola kwanukula. Ayi Mukama, nneesiga ggwe, Ayi Mukama Katonda wange, ggwe onoonnyanukula. Nkusaba nti toleka balabe bange kusanyuka olw'obuyinike bwange. Tobaganya kunneewaanirako nga ngudde. Ndi kumpi okugwa, Ndi mubulumi obutasalako. Njatula ebibi byange, Nnaanakuwala olw'okwonoona kwange. Abalabe bange balamu, ba maanyi. N'abo abankyayira obwereere bangi. Abo abansasula obubi olw'obulungi Be balabe bange, kubanga nfuba okukola ebirungi. Tondeka, Ayi Mukama, Ayi Katonda wange, tombeera wala. Yanguwa okunnyamba, Ayi Mukama, obulokozi bwange. Nnagamba nti, “Nneekuumanga amakubo gange, Nnemenga okusobya mu bye njogera. Nnaasirikanga, Ababi nga bali nange.” Nnasiruwala ne nsirika n'ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera. Ne nneeraliikirira, Bwe nnalowoozanga, nga nnyongera kweraliikirira. Ne ndyoka ŋŋamba nti: “Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ebbanga lye ndiwangaala. Ntegeere bwe ndi omumenyefu. Laba, ennaku zange wazigerera ku luta. N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, n'ebwawangaala, mukka bukka. Mazima buli muntu atambulira mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala. Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki? Mu ggwe mwe nnina essuubi. Nziggyaako ebibi byange byonna, Tonfuula kivume ky'abasirusiru. Nnasiruwala, ssaayogera, Kubanga wakikola. Toyongera kumbonereza, Amaanyi gampeddemu olw'okukuba kwo Bw'obonereza omuntu olw'okwonoona kwe, Omumaliramu ddala obulungi bwe, nebuba nga obuliriddwa ennyenje. Mazima, buli muntu mukka bukka. Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, owulire okukaaba kwange. Olw'okukaaba kwange, nnyamba. Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali. Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo.” Mu bugumikiriza nnalindirira Mukama, Nnantegera okutu, n'awulira okukaaba kwange. Yanzigya mu bunnya obw'okuzikirira, ne mu bitositosi, N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'annyweza nga ntambula. Yanjigiriza oluyimba oluggya, olutendereza Katonda waffe. Bangi abaliraba kino ne batya, Ne beesiga Mukama. Wa mukisa omuntu eyeesiga Mukama, Atassamu ba malala kitiibwa wadde abo abasinza ebitali Katonda. Ayi Mukama, Katonda wange, eby'ekitalo by'otukolera bingi, tewali akwenkana. By'otuteekerateekera bingi, Sisobola kubimenya kinnakimu, Wadde okubyogerako, Tebibalika obungi. Ssaddaaka n'ebiweebwayo si by'oyagala. Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi, tobyetaaga. Wabula wampa amatu mpulire. Ne ndyoka njogera nti, “Nzuuno, nzize.” Ebinjogerako biwandiikiddwa mu muzingo gw'ekitabo. Nsanyuka okukola by'oyagala, Ayi Katonda wange, Era nkuuma amateeka go, mu mutima gwange munda. Mbuulidde obulokozi bwo mu kibiina ekinene. Ayi Mukama, ggwe omanyi, Siirekangayo kukyogerako ekyo. Sikwekanga bulokozi bwo ne siibwogerako. Mbuulidde obwesige bwo n'amazima go. Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene. Naawe, Ayi Mukama, tolekaayo kunsaasira. Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna. Kubanga nneetooloddwa ebizibu bingi ebitabalika. Mbikkiddwa ebibi byange, ssiyinza kulaba. Bisinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi, era mpweddemu amaanyi. Kkiriza, Ayi Mukama, okumponya. Yanguwa okunnyamba, Ayi Mukama. Bonna bakwatibwe ensonyi baswale, Abaagala okunzita, Abasanyukira obuyinike bwange. Bazzibwe emabega nga baswadde. Abansekerera baswale. Bonna abakunoonya basanyuke, bajaguze. Abo abakwebaza olw'okubalokola, boogerenga bulijjo nti, “Mukama agulumizibwe.” Naye nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, Naye Mukama andowoozaako. Ggwe mubeezi wange era omulokozi wange. Tolwawo, Ayi Katonda wange. Wa mukisa oyo alumirwa abaavu; Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi. Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi. Taweebwengayo eri abalabe be okumukola bye baagala. Mukama anaamujjanjabanga ng'ali ku kitanda alwadde. Anaawonyezebwanga obulumi bwe bwonna. N'agamba nti, “Ayi Mukama, onsaasire, Omponye, kubanga nnyonoonye ggwe. Abalabe bange banjogerako obubi nti, ‘Alifa ddi, erinnya lye ne libula?’ Abajja okundaba, boogera ebitaliimu. Banoonya ebibi eby'okunjogerako, Bwe bava wendi, nebabyogera buli wantu. Bonna abankyawa bangeyera wamu: Ebisinga obubi bye bandowoozaako. Boogera nti, ‘Endwadde embi emukutte, Kaakano nga bw'agalamidde, tagenda kuwona.’ Era ne munnange, mukwano gwange, nze gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, Anefuulidde. Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire, omponye, Ndyoke mbawoolere eggwanga. Ntegedde nga onjagala, Kubanga omulabe wange tampangudde. Onywezeza olw'obutuukirivu bwange, Ontadde mu maaso go ennaku zonna. Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina.” Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda. Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, omulamu. Ndijja ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda? Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, So nga abantu baŋŋamba obudde okuziba nti, “Katonda wo ali luda wa?” Bino mbijjukira, ne nzijjayo ebiri mu mmeeme yange, Engeri gye nnagenda n'ekibiina ky'abantu, ne mbakulemberamu okugenda mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza ekyekuuma ebijjaguzo. Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange, era Katonda wange. Ayi Katonda wange, emmeeme yange yeenyika munda mu nze, Bw'entyo nkulowoozaako nga ndi mu nsi ya Yoludaani, Era ne ku nsozi za Kerumooni, ne ku kasozi Mizali, Obuziba bukoowoola obuziba, olw'okubwatuuka kw'ebiyiriro byo; Amayengo go gonna n'amasingiisira go bimpiseeko. Naye Mukama anaalaganga ekisa kye emisana, N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange, essaala eri Katonda ow'obulamu bwange. Ne ŋŋamba Katonda olwazi lwange nti, “Kiki ekikunneerabizza?” Lwaki ngenda nga nkaaba olw'okuyiganyizibwa abalabe bange? Ng'ekitala mu magumba gange, njigganyizibwa ebivumo byabwe; Nga bambuuza obutayosa nti, “Katonda wo ali ludda wa?” Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange era Katonda wange. Onsalire omusango, Ayi Katonda, era ompolereze eri abantu abatatya Katonda; Ondokole eri omuntu omulimba atali mutuukirivu! Kubanga ggwe oli Katonda mwe nneekweka; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki ngenda nga nkaaba olw'okunyigirizibwa kw'abalabe bange? Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye, Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo. Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda, Eri Katonda essanyu lyange eritasingika; Ne ku nnanga ndikutendereza, Ayi Katonda, Katonda wange. Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange era Katonda wange. Twawuliranga n'amatu gaffe, Ayi Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Eby'amagero bye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda. N'omukono gwo wagobamu amawanga, n'oteekamu bajjajjaffe; Wabonyaabonya amawanga, naye ababo n'obawa eddembe ddala. Kubanga abantu bo tebaawangula nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde amaanyi gaabwe si ge gabalokola; Wabula omukono gwo ogwa ddyo, n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, kubanga wabasanyukira. Ggwe oli kabaka wange, era Katonda wange: Owa obulokozi eri Yakobo abantu bo. Olw'obuyinza bwo tuwangula abalabe baffe; Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo bonna abatugolokokerako. Kubanga ssiryesiga mutego gwange, So ekitala kyange si kye kirindokola. Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe, Era wabaswaza abatukyawa. Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi; So tokyatabaala n'eggye lyaffe. Watuleka ne tudduka abalabe baffe; N'abo abatukyawa ne banyaga n'ebyaffe. Watuwaayo ng'endiga ez'okuttibwa; Watusaasaanya mu mawanga. Abantu bo wabatunda omuwendo mutono nnyo, tewasaba muwendo gwa waggulu mu bo. Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe, Ekinyoomebwa era ekisekererwa, eri abo abatwetoolodde. Otufuula olufumo mu mawanga, ekisekererwa mu bantu. Obudde okuziba okunyoomebwa kunjolekedde, Nzenna ensonyi zinsaanikidde, Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, era avuma; N'okulaba kw'omulabe n'oyo awooleera eggwanga. Ebyo byonna bitutuuseeko; naye tetukwerabidde, So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo. Omutima gwaffe teguzze mabega, So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo; Naye ggwe watusuula awali emisege, N'otuleka mu kizikiza ekikutte. Singa twerabidde erinnya lya Katonda waffe, oba okugolola emikono eri katonda omulala, Ekyo Katonda talikizuula? Kubanga ebyama byonna eby'omu mutima abimanyi. Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe; Tuli ng'endiga ez'okusalibwa. Zuukuka, kiki ekikwebasa, Ayi Mukama? Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna. Kiki ekikukwesezza amaaso go, N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira? Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu; Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka. Golokoka otuyambe! Otununule olw'ekisa kyo! Omutima gwange gujjudde musera ebigambo ebirungi; Bye njogera nga mpandiika oluyimba lwa kabaka: Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu. Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo; Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna. Weesibe ekitala kyo mu kiwato kyo, ggwe ow'amaanyi. Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo. Ne mu bukulu bwo weebagale owangule, Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu; N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa. Obusaale bwo bwa bwogi; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka; abantu bagwa wansi mu maaso go. Entebe yo, ey'o bwa Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna; Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo gwa bwenkanya. Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: N'olwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno. Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa ka mooli ne akaloosi ne kasiya; Okuva mu mbiri ez'amasanga ebivuga eby'enkoba bikusanyusizza. Abambejja bali mu bakyala bo ab'ekitiibwa; Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri. Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo; Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo; Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo; Kubanga ye Mukama wo; muvunnamire. Abantu abe Ttuulo balinnoonya okusiimibwa nga bakuwa ebirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu, baleeta eby'obugagga ebya buli ngeri. Omuwala wa kabaka ali munda mu lubiri, Ekyambalo kye kikoleddwa mu zaabu. Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde ebyambalo eby'amabala; Ne bawala banne embeerera, Nabo banaaleetebwa gy'oli. Banaaleetebwa n'okusanyuka n'okujaguza, Banaayingira mu nnyumba ya kabaka. Mu kifo kya bakitaawo, wanaabeera batabani bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna. Ndireteera erinnya lyo okujjagulizibwanga emirembe gyonna; n'olwekyo abantu banaakutendereza emirembe n'emirembe. Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku. Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja; Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo okw'amaanyi. Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo. Katonda ali wakati waakyo, tekiisagaasaganenga; Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu. Amawanga gaayoogaana, obwakabaka ne bwetabula: Yaleeta eddoboozi lye, ensi n'esaanuuka. Mukama ow'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama, Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi. Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi; Amenya omutego, n'effumu alikutula; N'amagaali agookya omuliro. Musirike mumanye nga nze Katonda. Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi. Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. Mukube mu ngalo, mmwe abantu mwenna! Mwogerere waggulu eri Katonda, n'eddoboozi ery'essanyu! Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa, Ye kabaka omukulu afuga ensi zonna. Yajeemulula abantu wansi waffe, N'amawanga wansi w'ebigere byaffe. Yatulondera ensi ey'obusika bwaffe, Essanyu lya Yakobo gwayagala. Katonda alinnye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe. Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okumutendereza; Muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza. Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna; Muyimbe okumutendereza ne zabbuli. Katonda afuga amawanga; Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu. Abalangira ab'amawanga bakuŋŋaanye. Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu. Kubanga engabo ez'omu nsi za Katonda; Era agulumizibwa nnyo. Mukama mukulu, agwanira okutenderezebwa ennyo, Mu kibuga kya Katonda waffe! ku lusozi lwe olutukuvu. Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiikakkono, Ekibuga kya kabaka omukulu. Katonda yeeraze mu mayumba gaakyo nga ye kye kiddukiro. Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana, Bajjira wamu bonna. Bwe bakiraba, bonna ne balyoka beewuunya; Ne batya, ne badduka. Ensisi n'ebakwatirayo; N'okulumwa, ng'okw'omukazi azaala. Olw'omuyaga oguva ebuvanjuba Omenyamenya amaato ag'e Talusiisi. Nga bwe twawuliranga, era bwe twalaba bwe tutyo Mu kibuga kya Mukama ow'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. Twalowooza ku kisa kyo, Ayi Katonda, Wakati mu Yeekaalu yo. Ng'erinnya lyo bwe liri, Ayi Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu. Olusozi Sayuuni lusanyuke! Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo! Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye, Mubale eminaala gyakyo. Mwekalirize enkomera zaakyo. Mulowooze amayumba gaakyo; Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja. Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe: Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa. Mukiwulire kino, mmwe abantu bonna; Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. Abakopi era n'abeebitiibwa, Abagagga awamu n'abaavu! Akamwa kange kanaayogera amagezi; Okulowooza kw'omutima gwange kunaaba okumanya. Nnaakyusa okutu kwange okuwuliriza olugero: Nnaabikkula ekigambo ekitategeerekeka n'ennanga. Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi, Obutali butuukirivu bwa balabe bange nga buneetooloodde, Abeesiga obugagga bwabwe, Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi? Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono, Newakubadde okuwa Katonda omuwendo ogw'obulamu bwe, Kubanga okununula emmeeme ye kwa muwendo, tewali kusasula kuyinza kumala, Alyoke awangaalenga ennaku zonna, Aleme okulaba obunnya, Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa, Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu, N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala. Entaana zaabwe ge maka gaabwe, mwe balisigala ennaku zonna; Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo. Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa, Ali ng'ensolo ezizikirira. Eno yenkomerero y'abo abalina obwesige obw'obusirusiru, Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe. Bateegekeddwa okuttibwa ng'endiga; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe; Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; Emibiri gyabwe tegirirwawo okuvunda, Emagombe ye eriba amaka gaabwe. Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alintwala ewuwe. Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala, Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera. Kubanga bw'alifa talitwala kintu; Ekitiibwa kye tekirikka naye mu ntaana. Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu, Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi, Naye alikka mu magombe eri bajjajja be; Tebaliraba musana nate. Omuntu alina ekitiibwa n'atakitegeera, Ali ng'ensolo ezizikirira. Omuyinza wa byonna, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasa. Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza. Katonda waffe alijja, so talisirika; Mu maaso ge waliwo omuliro ogwaka, Okumwetooloola waliwo omuyaga mungi. Alikoowoola eggulu waggulu, N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango; Mukuŋŋaanyize wendi abatukuvu bange; Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka. N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe; Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini! Muwulire, abantu bange, nange naayogera; Ggwe Isiraeri, nange nnaakutegeeza; Nze Katonda, Katonda wo. Siikunenye lwa ssaddaaka zo; N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo. Siriggya sseddume mu nnyumba yo. Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo. Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange, N'ente ku nsozi lukumi (1,000). Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi; N'ensolo ez'omu nsiko zange. Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde; Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo. Nze naalyanga ennyama eya sseddume, Oba nnaanywanga omusaayi gw'embuzi? Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza; Osasulenga obweyamo bwo eri oyo ali waggulu ennyo; Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze. Naye omubi Katonda amugamba nti Ofaayo ki okubuulira amateeka gange, Oba okutwala endagaano yange ku mimwa gyo? Kubanga okyawa okuyigirizibwa, N'ebigambo byange obisuula emabega bo. Bwe walaba omubbi walagaana naye, Era wassa ekimu n'abenzi. Owaayo akamwa ko eri obubi, N'olulimi lwo lwogera eby'obulimba. Otuula ng'ovuma muganda wo; Era owaayiriza omwana wa nnyoko. Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nnenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go. Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda, Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya! Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda. Onsaasire, Ayi Katonda, mu kisa kyo; Olw'okusaasira kwo okungi sangula ebyonoono byange byonna. Onnaalize ddala mu bubi bwange, Onnongoose mu kwonoona kwange. Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo. Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go: Obeere omutuukirivu bw'oyogera, Osinge omusango bw'osala. Laba, nze nnatondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira. Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima; Era mu mwoyo ogutalabika on'ommanyisa amagezi. Ontukuze n'ezobu, nange nnaaba mulongoofu; Onnaaze, nange nnaaba mutukuvu okusinga omuzira. Ompulize essanyu n'okwesiima; Amagumba ge wamenya gasanyuke. Okise amaaso go mu bibi byange, Osangule ebyonoono byange byonna. Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda; Onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange. Tongoba w'oli; So tonziggyaako omwoyo gwo omutukuvu. Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo, Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe. Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi; N'abalina ebibi balikyukira gy'oli. Omponye mu musango gw'omusaayi, Ayi Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange; Olulimi lwange luliyimba nnyo obulokozi bwo. Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange; N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo. Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naandizikuwadde; Ebiweebwayo ebyokebwa tebikusanyusa. Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese; Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga. Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala; Okolere Yerusaalemi bbugwe. N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu, eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba; Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo. Lwaki weenyumiririza, ggwe omuzira olw'ebibi ebikolebwa ku batuukirivu? Olunaku lwonna, oteekateeka okuzikiriza abalala; Olulimi lwo lulinga akamwano ak'obwogi, ggwe omukozi ow'enkwe. Oyagala ebibi okusinga ebirungi, N'okulimba okusinga okwatula amazima. Oyagala ebigambo ebirumya abalala, Ggwe olulimi olw'obulimba. Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu. Era n'abatuukirivu balikiraba, ne batya, Balimusekerera, ne boogera nti, “Laba, ye wuuyo omusajja ataafuula Katonda mukuumi we; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Nnanoonya obukuumi mu bugagga bwe!” Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni ogukulira mu nnyumba ya Katonda. Nneesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe. Nnaakwebazanga ennaku zonna, olw'ebyo by'okoze. Era nnaalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo. Omusirisiru ayogedde mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Bavunze, bakoze ebibi eby'omuzizo; Tewali n'omu akola bulungi. Katonda atunuulira abaana b'abantu ng'asinziira mu ggulu, Alabe oba nga waliwo abategeera, Abanoonya Katonda. Buli muntu mu bo azze emabega amuvuddeko; bonna awamu bagwagwawadde; Tewali akola bulungi, tewali n'omu. Abakola obubi tebalina magezi, Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere, Era tebasinza Katonda? Awatali kitiisa we batiira ennyo, okutya okutabangawo! Kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g'abatali batuukirivu; Balikwatibwa ensonyi, kubanga Katonda yabagaana. Singa obulokozi bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni! Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza. Ndokola, Ayi Katonda, olw'erinnya lyo, Onzigyeko omusango olw'amaanyi go. Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda; Otege okutu kwo eri ebigambo eby'omukamwa kange. Kubanga bannamawanga bangolokokeddeko, N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange; Tebateeka Katonda mu maaso gaabwe. Laba, Katonda ye mubeezi wange; Mukama ali wamu n'abo abanyweza emmeeme yange. Aliwalana obubi obwo ku balabe bange: Obazikirize mu mazima go. Ssaddaaka ey'omwoyo ogw'eddembe gye ndikuwa ggwe; Nneebazanga erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi. Kubanga anzigye mu kweraliikirira kwonna; N'eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuka ku balabe bange. Tega okutu eri okusaba kwange, Ayi Katonda; So teweekweka obutawuliriza kwegayirira kwange. Mpulira, onziremu; Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda; Olw'eddoboozi ly'omulabe, Olw'okujooga kw'ababi; Kubanga bandeetako emitawaana, Era banjigganya mu busungu. Omwoyo gunnuma nnyo munda yange: N'entiisa ey'okufa enguddeko. Okutya n'okukankana kuntuuseeko, N'okwekanga kunnumbye. Ne njogera nti Singa mbadde n'ebiwaawaatiro ng'ejjiba! Nnandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula. Laba, nandikyamidde wala, Nnandisuze mu ddungu. Nnandyanguye okudduka ne nneewogoma, Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi. Bazikirize, Ayi Mukama, oyawule ennimi zaabwe; Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga. Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo; Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo. Okwonoona kuli wakati mu kyo; Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo. Singa omulabe yanjiganya; Nnandiyinzizza okugumiikiriza; So singa oyo eyankyawa yanneegulumirizaako; Nnandyekwese mu maaso ge. Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambulanga nange, mukwano gwange gwe nnamanyiira ennyo. Twateesanga ebigambo n'essanyu ffembi, Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina. Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu; Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati. Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga. Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu nneemulugunyanga ne nsindanga; Naye anaawuliranga eddoboozi lyange. Anaanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga, Kubanga abaali balwana nange bangi. Katonda aliwulira, n'abakakanya, Ye oyo eyaatikirwa edda n'edda lyonna, kubanga tebakuuma mateeka, era tebatya Katonda. Eyali munnange yagolola emikono gye ku mikwano gye, Yamenya endagaano gye yakola. Okwogera kwe kwali kugonvu ng'omuzigo, So nga olutalo lwali mu mutima gwe; Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, So nga byali bitala ebisowoddwa. Teekanga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga; Taaganyenga abatuukirivu okuwangulwa ennaku zonna. Naye ggwe, Ayi Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira; Abantu abaagala omusaayi n'abo abalimba olibasuula mu ntaana ng'emyaka gye bandiwangadde tebanagituusa na wakati; Naye nze nneesiganga ggwe. Onsaasire, Ayi Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze; Bazibya obudde nga balwana, nga banjooga. Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba; Kubanga bangi bannwanyisa n'amalala. Buli lwe nnaatyanga, Nneesiganga ggwe. Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza, Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu obuntu bayinza kunkola ki? Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde; Ebirowoozo byabwe byonna bya kunkolako bulabe. Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange. Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu bwo suula amawanga, Ayi Katonda! Ggwe omanyi ennaku yange; Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko! Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo? Abalabe bange ne balyoka bazzibwa emabega ku lunaku lwe ndikukoowooleramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku ludda lwange Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza, Mu Mukama nditendereza ekigambo kye. Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okunkola ki? Ebirayiro byo biri ku nze, Ayi Katonda; Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza gyoli. Kubanga wawonya emmeeme yange okufa, Owonyeezza ebigere byange okwesittala. Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda Mu musana ogw'abantu abalamu. Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire; Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe: Weewaawo, mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga, Okutuusa amayengo agazikiriza nga gaayiseewo. Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo; Katonda atuukiriza byonna bye yantegekera. Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola, Aliswaza abo abaagala okummira; Katonda alituma okusaasira kwe n'amazima ge! Ngalamidde wakati mu mpologoma; Ezaagala okummira abaana b'abantu, amannyo gaabwe ge mafumu n'obusaale, N'olulimi lwabwe kye kitala eky'obwogi. Bakugulumize, Ayi Katonda, okusinga eggulu! Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna. Bateekeddeteekedde ebigere byange akatimba; Emmeeme yange ejjudde obuyinike. Bansimidde obunnya mu kkubo lyange; Naye bo bennyini babuguddemu. Omutima gwange gunywedde, Ayi Katonda, omutima gwange gunywedde! Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby'okutendereza! Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange; zuukuka, entongooli n'ennanga! Nze nzekka n'azuukuka enkya mu matulutulu. Ndikwebaliza ggwe, Ayi Mukama, mu bantu; Ndiyimba eby'okukutendereza ggwe mu mawanga. Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu, N'amazima go gatuuka mu bire. Bakugulumize, Ayi Katonda, okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna. Mulagira ebituufu mwe ba katonda? Mulamula abaana b'abantu mu mazima? Nedda naye mu mitima gyammwe mulowooza kukola bubi; N'emikono gyammwe mukola bya ttima mu nsi. Ababi bakyama nga bakyali mu lubuto, Baasobya okuva mu buto bwabwe, nga boogera eby'obulimba. Obusagwa bwabwe buli ng'obusagwa obw'omusota, Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo; Eritawulira ddoboozi lya balozi, Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya. Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe; Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, Ayi Mukama! Baggweewo ng'amazzi agakulukuta amangu; Ng'omuddo balinnyirirwe, bawotoke, babe nga bazikirizibbwa. Babe ng'ekkovu erisaanuuka eriggwaawo, Era ng'omwana omukazi gw'ataasa, atalabanga ku musana. Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa, Oba ga kiragala, oba g'akwokebwa, gonna agasaanyewo! Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi. Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa; Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi. Ondokole mu balabe bange, Ayi Katonda wange, Onkuume eri abo abangolokokerako. Ondokole eri abo abakola ebitali bya butuukirivu, Omponye eri abo abaagala omusaayi. Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba. Si lwa kwonoona kwange, wadde ekibi kyange, Ayi Mukama. Badduka, nga beeteekateeka okunnumba nga sikoze bubi. Ozuukuke olabe onnyambe! Ggwe, Ayi Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, Ogolokoke obonereze amawanga gonna; Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi. Bakomawo buli kawungeezi, nga bakaaba ng'embwa, ne beetooloola ekibuga. Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe, Kubanga boogera nti Ani anatuwulira? Naye ggwe, Mukama, olibasekerera; Oliduulira amawanga gonna. Ayi amaanyi gange, nnaakulindiriranga ggwe; Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu. Katonda wange mu kusaasira kwe anansinsinkana; Katonda anandabisa bye njagala nga bituuka ku balabe bange. Tobatta, ayi Katonda, abantu bange baleme okwerabira; Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ayi Mukama ggwe engabo yaffe! Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe, Bakwatibwe nga beenyumiriza, Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera. Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate, Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi. Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa, Beetooloole ekibuga. Balitambulatambula nga banoonya emmere, Balikeesa obudde bwe batalikkuta. Naye nze nnaayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, nnaayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya. Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange. Ggwe, Ayi amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza, Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda andaga okusaasira kwe. Ayi Katonda, otusudde, omenyeemenye ebyo ebitukuuma; Watusunguwalira; naye tukwegayiridde otukomyewo. Wakankanya ensi; n'ojabuluzaamu; Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga. Olese abantu bo okubonaabona ne ebigambo ebizibu; Otunywesezza omwenge, ogutuleteedde okutagatta. Otaddewo ebendera eri abo abakutya, Ekifo ekisinziirwako okulumba. Muganzi wo alyoke awonyezebwe, Lokola n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu! Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza; Ndigabanya mu Sekemu, era ndigabaagaba ebitundu by'ekiwonvu ekya Sukkosi. Gireyaadi wange, era ne Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka. Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto yange; Ggwe Firisutiya, yogerera waggulu ku lwange. Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu? Otuvuddemu, Ayi Katonda? So tokyatabaala na ggye lyaffe, Ayi Katonda. Otuyambe eri omulabe, Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu! Katonda ye anaatukozesaanga eby'obuzira; Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga abalabe baffe. Owulire okukaaba kwange, Ayi Katonda; Owulirize okusaba kwange. Nga nsinziira ku nkomerero z'ensi nnaakukoowoolanga, omutima gwange bwe gunaazirikanga. Ntwala ku lwazi olunsinga obuwanvu. Kubanga wali kiddukiro gye ndi, Ekigo eky'amaanyi eri omulabe. Nnaatuulanga mu weema yo emirembe gyonna! Ndyoke mbeere mirembe mu bukuumi bw'ebiwaawaatiro byo. Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange, Ompadde obusika bw'abo abaagala erinnya lyo. Yongera ku nnaku ez'obulamu bwa kabaka, Emyaka gye gigumire emirembe emingi. Attikirwe engule emirembe gyonna mu maaso ga Katonda ennaku zonna; Leka okwagala okutuukiridde n'amazima, bimukuume. Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna; Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange. Emmeeme yange erindirira Katonda yekka; Oyo obulokozi bwange mwe buva. Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange; Kye kigo kyange ekiwanvu; sirisagaasagana nakatono. Mulituusa wa okulumba omuntu, Okumutta, mmwe mwenna, Ng'ekisenge ekyewunzise, ng'olukomera oluyuuga? Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe; Basanyukira eby'obulimba. Boogera eby'omukisa n'akamwa kaabwe, naye bakolima mu mitima gyabwe. Emmeeme yange, lindiriranga Katonda yekka; Kubanga oyo okusuubira kwange mwe kuva. Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange; Oyo kye kigo kyange ekiwanvu, sirisagaasagana. Awali Katonda we wali obulokozi bwange n'ekitiibwa kyange; Ejjinja ery'amaanyi gange n'ekiddukiro kyange biri mu Katonda. Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mumwanjulirenga byonna ebiri mu mutima gwammwe; Katonda kye kiddukiro gyetuli. Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba; Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka; Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa. Temwesiganga kujooga, Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga; Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo. Katonda yayogera omulundi gumu, Mpulidde bwe ntyo emirundi ebiri; Nga Katonda ye nannyini buyinza; Era ggwe, Ayi Mukama, ggwe olina okwagala okutuukiridde. Kubanga osasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli. Ayi Katonda, ggwe oli Katonda wange; nnaakeeranga okukunoonya: Emmeeme yange erumwa ennyonta ku lulwo, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi. Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu kifo ekitukuvu, Ndabe obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo. Kubanga okwagala kwo okutuukiridde kusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga. Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu; Nnaayimusanga emikono gyange ne nkoowoolanga erinnya lyo. Emmeeme yange ennekkusibwanga ng'alidde obusomyo n'amasavu; N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'ennyimba ez'essanyu; Nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange, Nnaakulowoozangako mu bisisimuka eby'ekiro. Kubanga wabeeranga mubeezi wange, Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga. Emmeeme yange ekunywereddeko okukugoberera; Omukono gwo ogwa ddyo gwe gumpanirira. Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza, Baligenda wansi mu ttaka. Baliweebwayo okuttibwa ne kitala; Ebibe ne bibeeriira. Naye kabaka alisanyukira Katonda; Buli alayira Katonda alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa. Owulirenga eddoboozi lyange, Ayi Katonda, mu kwemulugunya kwange; Okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe. Onkweke okuva mu nkwe ez'ekyama ez'ababi, okuva mu ntegeka ez'abakozi b'obubi; N'eri okuyoogaana kw'abo abakola ebitali bya butuukirivu; Abawagadde olulimi lwabwe ng'ekitala, Abalagiriza ebigambo eby'obukambwe ng'obusaale, Balasa mu kyama oyo eyatuukirira, Baamulasa nga talaba, ne batatya. Bagumyagana emyoyo nga bateesa obubi; Bateesa okutega emitego mu kyama; Boogera nti, “Ani anaagiraba?” Ani ayinza okunoonyereza ku misango gyaffe? Tulowoozezza ku ntegeka ennekusifu. Kubanga okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biba bye buziba! Naye Katonda alibalasa; Balifumitibwa n'akasaale nga tebalowooza. Olw'olulimi lwabwe alibaleetako okuzikirizibwa, Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe. Era abantu bonna banaatyanga; Ne batendereza omulimu gwa Katonda, Ne balowooza n'amagezi bye yakola. Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga; Era bonna abalina emitima egy'amazima baneenyumirizanga. Ettendo likulindirira Ayi Katonda, mu Sayuuni; Era gyoli banaawangayo obweyamo. Ayi ggwe awulira okusaba! Bonna abalina omubiri balijja gy'oli, okusinziira ku bibi byabwe. Okwonoona kwaffe bwe kunaatunyigiriza, Ggwe olikunaaliza ddala. Alina omukisa oyo gw'olonda, era gw'osembeza gy'oli. Abeerenga mu mpya zo! Tunakkusibwanga ebirungi eby'omu nnyumba yo, eby'omu watukuvu mu Yeekaalu yo! N'ebigambo eby'entiisa otwanukula mu butuukirivu, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe; Ggwe essuubi ly'enkomerero zonna ez'ensi, era n'ennyanja eziri ewala; Oyo yanyweza ensozi n'amaanyi ge, Nga yeesibye obuyinza; Asirisa okuwuuma kw'ennyanja, Okuwuuma kw'amayengo gaayo, N'okuyoogaana kw'amawanga. Era n'abo abatuula ku nkomerero z'ensi batya olw'obubonero bwo; Ggwe aleetera okufuluma kw'enkya n'okwakawungeezi, okuyimba n'essanyu. Okyalira ensi, n'ogifukirira, Ogigaggawaza nnyo; Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi; Obawa eŋŋaano, ng'omaze okulongoosa ensi bw'otyo. Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi; Olongoosa embibi zaayo, Ogigonza n'oluwandaggirize; Okuwa omukisa okumera kwayo. Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo; Ebigaali by'amagaali go bitirika amasavu. Omuddo ogw'omu ddungu, gwanyiza, N'obusozi bwesiba essanyu. Amalundiro gajjudde ebisibo; Era n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano; Byogerera waggulu olw'essanyu, era biyimba. Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ggwe ensi yonna; Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye; Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa! Gamba Katonda nti, “Emirimu gyo nga gya ntiisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemulukukira. Ensi yonna ekusinza, Bakuyimbira amatendo go; Bayimba amatendo eri erinnya lyo.” Mujje mulabe emirimu gya Katonda; Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu. Ennyanja yagifuula olukalu; Abantu ne bayita mu mugga ku bigere. Eyo gyetwasanyukira mu ye. Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga, Abajeemu balemenga okwegulumiza. Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe, Muwulize eddoboozi erimutendereza; Akwatirira emmeeme yaffe obutafa, Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana. Kubanga ggwe, Ayi Katonda, watugeza; Watugezesa nga bwe bagezesa effeeza. Watuyingiza mu kitimba; Wateeka omugugu omuzito ku bibegabega byaffe; Waleka abalabe baffe okutulinnya ku mitwe; Twayita mu muliro ne mu mazzi; Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga. Nnaayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa, Nnaakusasula obweyamo bwange, Emimwa gyange bwe gyayogera, N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku. Nnaakuwa eby'okwokya ebya ssava, N'eby'okwoteza eby'endiga eza sseddume; Nnawaayo ente n'embuzi. Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda, Nange ne mbabuulira bye yakolera emmeeme yange. Nnamukoowoola n'akamwa kange, Era yatenderezebwa n'olulimi lwange. Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire! Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange. Katonda yeebazibwe, Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe. Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa, Atwakizenga amaaso ge; Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi, Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna. Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga. Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu, Kubanga osalira abantu emisango n'obwenkanya, Era oluŋŋamya amawanga gonna mu nsi. Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga! Ensi ereese ekyengera kyayo; Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa. Katonda anaatuwanga omukisa; N'enkomerero zonna ez'ensi zinaamutyanga! Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane; Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge! Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo; Ng'envumbo bw'esaanuuka awali omuliro, N'ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda! Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda; Weewaawo, bajaguze n'essanyu! Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye; Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; Ya lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge. Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era omukuumi wa bannamwandu, Oyo ye Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu. Katonda awa abawuulu ennyumba; Aggya abasibe mu kkomera ne balaba ebirungi; Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze. Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo, Bwe watambula nabo mu ddungu; Ensi n'ekankana, Enkuba nefukumuka okuva mu ggulu mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri. Ggwe, Ayi Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi, N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye. Ekibiina kyo kyatuula omwo; Ggwe, Ayi Katonda, wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo. Mukama yawa ekiragiro; Eggye eddene ery'abakazi ne batwala amawulire. Bakabaka b'eggye badduka, badduka! Abakazi abasigala eka be bagaba omunyago. Muligalamira mu bisibo by'endiga, Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza, N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu. Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka, Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni. Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda; Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu! Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna. Amagaali ga Mukama gy'emitwalo ebiri (20,000), ze nkumi n'enkumi; Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu. Olinnye waggulu, n'otwala abasibe bangi; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo. Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. Katonda ye Katonda atulokola; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa. Naye Katonda alyasa emitwe gy'abalabe be, N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango. Mukama yayogera nti Ndibakomyawo okuva mu Basani, Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja, Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi, Olulimi lw'embwa zo lunagukombanga nga bwe zaagala. Balabye bw'otambula, Ayi Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu. Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde, Wakati mu bawala abakuba ebitaasa. Mwebalize Katonda mu bibiina, Ye Mukama, mmwe abasibuka mu Isiraeri. Waliwo Benyamini omuto abafuga, kuddeko abalangira ba Yuda ne be baateesa nabo, bagobererwe abalangira ba Zebbulooni, n'abalangira ba Nafutaali. Katonda wo alazze amaanyi ge; Onywezenga, Ayi Katonda, kye watukolera. Olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi, Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo. Boggolera ensolo ezo ez'omu bitoogo, Ente ennyingi eza sseddume, n'ennyana ez'amawanga, Linyirira wansi w'ebigere byo abo abayayanira ebirabo; saasaanya abantu bonna abasanyukira entalo. Ebikomo bireeteebwe okuva e Misiri; Kuusi eyanguwe okugolola emikono gyayo eri Katonda. Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi; Kale muyimbe okutendereza Mukama; Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi. Mumuwe Katonda ekitiibwa n'amaanyi, Obulungi bwe bufuga Isiraeri, N'amaanyi ge gali mu ggulu. Ayi Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu, Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe! Ndokola, Ayi Katonda! Kubanga amazzi gantuuse mu bulago. Ntubira mu bitosi ebiwanvu awatali kuyimirira; Ntuuse mu buziba bw'amazzi, omujjuzo gw'amazzi gunkulukuttirako. Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze, Amaaso gange gayimbadde nga, nnindirira Katonda wange. Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi; Ba maanyi abaagala okunzikiriza, abo abannumba nga bawayiriza. Ebyo bye ssabba kaakano bye nsaana okuzzawo? Ayi Katonda, ggwe omanyi obusirusiru bwange; N'okwonoona kwange tekukisibwa woli. Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, Ayi Mukama Katonda ow'eggye; Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, Ayi Katonda wa Isiraeri. Kubanga banvuma okunnanga ggwe; Ensonyi zibisse amaaso gange. Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange, Era n'eri abaana ba mmange. Kubanga obuggya obw'ennyumba yo bundidde; N'ebivume by'abo abakuvuma ggwe bizze ku nze. Bwe nnakaaba amaziga, emmeeme yange n'esiiba enjala, Ekyo kye kyanvumya. Bwe nnayambala ebibukutu, Ne mbafuukira eŋŋombo. Abatuula mu mulyango banjogerako, Era ndi luyimba lwa batamiivu. Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, Ayi Mukama, mu kiseera eky'okukkirizibwamu; Ayi Katonda, mu kusaasira kwo okungi, Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo. Onnyinyulule mu bitosi, nneme okutubira; Ndokoke eri abo abankyawa ne mu mazzi ag'eddubi. Amazzi amangi galeme okunsaanyaawo, Newakubadde obunnya buleme okummira, oba obunnya okunzigalira mu kamwa k'abwo. Onziremu, Ayi Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi; Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire. So tokisa amaaso go omuddu wo; Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu. Osemberere emmeeme yange, oginunule, Onfuule ow'eddembe olw'abalabe bange. Ggwe omanyi bwe nvumibwa, bwe nkwatibwa ensonyi, bwe nnyoomebwa; Abalabe bange bonna bali mu maaso go. Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku. Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n'omu. Era abanaansanyusa, naye ne siraba. Era bampa omususa okuba emmere yange; Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu. Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gyebali; Era bwe baba mu mirembe, gifuukenga omutego. Amaaso gaabwe gabenga mu kizikiza, baleme okulaba; Okankanyenga ebiwato byabwe ennaku zonna. Obafukengako ekiruyi kyo, N'obusungu bwo obukambwe bubatuukengako. Ennyumba yaabwe erekebwenga, So omuntu yenna alemenga okubeera mu weema zaabwe. Kubanga baayigganya oyo gw'obonereza; Era boogera ku nnaku zaabo b'ofumise. Oyongerenga ekibonerezo ku kibonerezo ku bo; So balemenga okuyingira mu butuukirivu bwo. Basangulibwenga okuva mu kitabo ky'obulamu, So balemenga okuwandiikibwa awamu n'abatuukirivu. Naye nze ndi mwavu, era ndi mu bulumi; Obulokozi bwo, Ayi Katonda, bungulumize waggulu. Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda n'oluyimba, Naamugulumizanga n'okwebaza. Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga ente, Ente erina amayembe n'ebinuulo. Abo abanyigirizibwa bakirabye ne basanyuka; Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu. Kubanga Mukama awulira abaavu, So tanyooma basibe be. Eggulu n'ensi bimutenderezenga, Ennyanja ne byonna ebigitambuliramu. Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, era alizimba ebibuga bya Yuda; Nabo balituula omwo, ne bagirya. Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira; N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo. Oyanguwe, Ayi Katonda, okundokola! Oyanguwe okunnyamba, Ayi Mukama! Bakwatibwe ensonyi baswale Abanoonya emmeeme yange! Bazzibwe ennyuma bajeezebwe Abasanyukira okufiirwa kwange! Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe Aboogera nti Nyenya! nyenya! Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga; N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga.” Naye nze ndi mwavu, sirina kintu! Oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda! Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Ayi Mukama, tolwawo! Eri ggwe, Ayi Mukama, gye nzirukira; Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna! Ondokole olw'obutuukirivu bwo, omponye; Ontegere okutu, ondokole! Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo; Ggwe olagira okundokola; Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange. Omponye, Ayi Katonda wange, mu mukono gw'omubi, Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe. Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, Ayi Mukama Katonda; Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange. Ggwe wampanirira okuva mu lubuto; Ggwe wanzigya mu byenda bya mmange. Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna. Nninga ekyewuunyisa eri abantu abangi; Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi. Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, Nnenjolesa ekitiibwa kyo okuzibya obudde. Tonsuula mu biro eby'obukadde; Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula. Kubanga abalabe bange banjogerako; N'abo abateega emmeeme yange bateesezza wamu, Nga boogera nti, “Katonda amulese, Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya.” Ayi Katonda, tombeera wala; Ayi Katonda wange, yanguwa okunnyamba. Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange; Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi. Naye nnaasuubiranga ennaku zonna, Era nnaayongeranga okukutenderezanga bulijjo. Akamwa kange kanaatendanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sisobola kugutegeera. Nnaatenderezanga ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda, Nnaayongeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka. Ayi Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero nnaabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo. Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, Ayi Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja. Era n'obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, bugulumivu nnyo, Ggwe eyakola ebikulu, Ayi Katonda, afaanana nga ggwe ye ani? Ggwe eyandaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olinzuukiza nate, Era olininnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi. Oyongerenga bw'otyo obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse. Era nnaakutenderezanga n'endere, Amazima go ge nnaatenderezanga, Ayi Katonda wange; Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga, Ayi ggwe Omutukuvu wa Isiraeri. Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza; N'emmeeme yange gye wanunula. Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde, Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi. Ayi Katonda owenga kabaka alamulenga emisango gyo, mu mazima; Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka! Anaasaliranga abantu bo emisango egy'obutukirivu, N'abaavu balamulwenga mu bwenkanya. Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe, N'obusozi, bunnajjulanga obutuukirivu! Anaasaliranga omusango abaavu ab'omu bantu, Anaalokolanga abaana b'abo abatalina bintu, Era anaamenyaamenyanga omujoozi. Abantu bakusinzenga ng'enjuba ekyaliwo, Era ng'omwezi gukyayaka, emirembe gyonna! Kabaka abe ng'enkuba bw'etonnya ku ssubi erisaliddwa, Ng'empandaggirize ezifukirira ensi! Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa, Era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo! Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, Era okuva ku mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi! Abatuula mu ddungu balimufukaamirira; N'abalabe be balikomba enfuufu! Bakabaka b'e Talusiisi n'ab'oku Bizinga banaaleetanga ebirabo, Bakabaka b'e Syeba n'ab'e Seeba banaawangayo ebitone! Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge, Amawanga gonna ganaamuweerezanga! Kubanga anaawonyanga omunafu bw'anaakaabanga, N'omwavu, n'atalina buyambi. Anaasaasiranga omwavu n'omunafu, N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga. Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n'ettima; N'omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge. Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e Syeba! Era abantu banaamusabiranga bulijjo; Banaamwebazanga okuzibya obudde! Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi; Ebibala byayo binaabaanga bingi ng'eby'omu Lebanooni; Ebibuga bijjule abantu, ng'ettale bwe lijjula omuddo! Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna; Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba! N'abantu banaalabanga omukisa mu ye; Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa! Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri, Akola eby'amagero yekka. N'erinnya lye ery'ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye! Amiina, era Amiina! Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde. Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, N'eri abo abalina emitima emirongoofu. Naye nze, nali nnaatera okuterebuka, Okukkiriza kwange nga kuseebengerera. Kubanga ab'amalala mbakwatirwa obuggya, Bwe ndaba ababi nga balina omukisa. Bo tebalina kibaluma, Balamu era ba maanyi. Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; Tebabonaabona ng'abantu abalala. Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo. Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala. Baduula era boogera bakudaala, Beewaana ne batiisatiisa abalala. Boogera ebinyooma Katonda ali mu ggulu, Banyooma n'abantu be ku nsi. Abantu kyebaava bakyukira gyebali, Bye boogera ne babikkiriza. Bagamba nti, “ Katonda alimanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?” Ababi bwe batyo bwe baba. Babeera bulungi bulijjo, beeyongera kugaggawala. Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nneekuuma obutayonoonanga. Kubanga mbonaabona okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya. Singa n'ayogera bwe ntyo, Sandibadde ng'omu ku baana bo. Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyannema ne nsirika. Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ntegeera ebibatuukako ku nkomerero. Mazima obateeka awali obuseerezi, bagwe bazikirire. Tebalwa kuggwaawo, Ne bazikirizibwa entiisa. Bayita ng'ekirooto eky'omuntu azuukuse; Ayi Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe. Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange ne yennyamira. Nali musiru nga ssitegeera, Nali ng'ensolo mu maaso go. Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo. Onoonnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa. Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala okuggyako ggwe. Omubiri gwange n'omutima gwange biyinza okunafuwa: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna. Kubanga, abakwewala balizikirira, Olizikiriza abatali beesigwa abakulekawo. Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna. Ayi Katonda, lwaki watusuula ennaku zonna? Olisunguwalira endiga ez'omu ddundiro lyo emirembe gyonna? Jjukira abantu be weefunira okuva edda, Be wanunula babe eggwanga eriryo ddala. Jjukira Olusozi Sayuuni kwe wabeeranga. Lambula ebifo ebisigadde nga matongo. Omulabe azikiriza byonna mu kifo ekitukuvu. Abalabe bo balekanira, mu kifo kyo ekitukuvu, Mu kifo kyo ekitukuvu. Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero. Bafaanana ng'abantu abakutte Embazzi okutema emiti mu kibira. Baamenyaamenya ebibajje byonna Babyasa n'embazzi n'ennyondo. Bookezza ekifo kyo ekitukuvu, Ennyumba yo baginyoomye ne bagizikiriza. Boogedde mu mitima gyabwe nti, “Tubazikiririze ddala bonna.” Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu ggwanga. Tetukyalaba bubonero bwaffe; Tewakyali nnabbi n'omu; So temuli n'omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma. Ayi Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma? Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna? Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo? Oguggye mu kifuba kyo obazikirize. Naye Katonda ye Kabaka wange okuva edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi. Wayawula ennyanja n'amaanyi go: Wamenya emitwe gy'agasolo mu mazzi. Wamenyaamenya emitwe gya Lukwata, Wamuwa okuba emmere y'abo abatuula mu ddungu. Wazibukula ensulo n'emyala n'omukka: Wakaza emigga eminene. Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba. Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi. Ojjukire kino ng'abalabe bavumye, Ayi Mukama, Era abantu abasirusiru banyooma erinnya lyo. Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna. Ojjukire endagaano; Kubanga ebifo eby'enzikiza eby'ensi bijjudde ennyumba ez'ettima. Ajoogebwa alemenga okudda ng'akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde; Abaavu n'abanafu batenderezenga erinnya lyo. Golokoka, Ayi Katonda, weewolereze ensonga yo; Ojjukire omusirusiru bw'azibya obudde okukuvuma. Teweerabira ddoboozi lya balabe bo; Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo. Tukwebaza, Ayi Katonda; Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi: Abantu boogera ku bikolwa byo eby'ekitalo. Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo, Ndisala emisango egy'ensonga. Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo, Nze nsimbye empagi zaayo. N'agamba ab'egulumiza nti, “Temwegulumiza,” N'ababi nti, “Temuyimusanga jjembe” Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe Temwogeranga n'ensingo enkakanyavu. Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba, Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiikaddyo. Naye Katonda ye mulamuzi, Atoowaza ono, n'oli amugulumiza. Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwe kiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu; Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka; Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa. Naye nze nnaasanyukanga emirembe gyonna, Nnaayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo. Era amaanyi gonna ag'ababi naagazikirizanga; Naye amaanyi g'abatuukirivu ganaagulumizibwanga. Mu Yuda Katonda amanyiddwa, Erinnya lye kkulu mu Isiraeri. mu Salemi eweema ye mweri, N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni. Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego, Engabo, n'ekitala, n'olutalo. Oli wa muwendo, wa kitiibwa nnyo, osinga ensozi ezolubeereera. Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; bantu bonna abalwanyi, tebasobola kukozesa emikono gyabwe. Bwe wabogolamu, ggwe Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi n'embalaasi ne birambaala. Naye ggwe, otiibwa! Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng'omaze okusunguwala? Wasinzira mu ggulu n'osala omusango; Ensi n'etya, n'esirika, Katonda bwe yagolokoka okusala omusango, Okulokola abanyigirizibwa bonna abali mu nsi. Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza; Obusungu obulisigalawo olibwesiba. Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe; Bonna abamwetoolodde bamuleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa. Alizikiriza omwoyo gw'abalangira, Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi. Nnaakabiranga nnyo Katonda, mukabira nnyo, asobole okumpulira, Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa. Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira; Nfuumitiriza, omwoyo gwange ne guzirika. Oziyiza maaso gange okuzibirira; Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera. Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda. Njijukira oluyimba lwange ekiro, Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala. Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate? Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe? Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange; Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo. Nnaayongeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda. Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era nnaafumiitirizanga ebikolwa byo. Ekkubo lyo, Ayi Katonda, ttukuvu, Katonda ki oyo, asinga Katonda waffe? Ggwe Katonda akola eby'amagero, Wamanyisa amaanyi go mu mawanga. Wanunula abantu bo n'omukono gwo, Abaana ba Yakobo ne Yusufu. Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya, Era n'obuziba ne bukankana. Ebire ne bitonnya amazzi; Eggulu ne libwatuka, Era n'obusaale bwo ne bubuna. Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta; Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna, Ensi n'ekankana n'eyuuguuma. Ekkubo lyo lyali mu nnyanja. N'empenda zo zaali mu mazzi amangi. N'ebigere byo tebyamanyika. Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga, Mu mukono gwa Musa ne Alooni. Muwulire, mmwe abantu bange, okuyigiriza kwange; Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange. Nnayogerera mu lugero, Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda, Bye twawuliranga, bye twamanyanga, Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga. Tetuubikisenga baana baabwe, Naye tunabuuliranga buli mulembe ogujja, ebikolwa bya Mukama eby'ekitalo, n'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola. Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babiyigirizenga abaana baabwe, Emirembe egijja gibimanye, n'abaana abalizaalibwa, nabo babibuulire abaana baabwe, Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge, So balemenga okuba nga bajjajjaabwe, Omulembe ogw'abakakanyavu, era omujeemu, omulembe ogutalina mutima munywevu, Ogwalina omwoyo ogutali gwa mazima eri Katonda. Abaana ba Efulayimu, nga balina obusaale obw'okulwanyisa, Ne badduka mu lutalo, Tebaakwata ndagaano ya Katonda, Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge; Ne beerabira ebikolwa bye, N'eby'amagero bye bye yabalaga. Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe, Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani. Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati; N'ayimiriza amazzi ng'entuumo. Era emisana yabakulemberanga n'ekire, N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro. Yayasa amayinja mu ddungu, N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba. Era yaviisa ensulo mu jjinja, N'akulukusa amazzi ng'emigga. Naye bo ne beeyongera bweyongezi okumwonoona, Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu. Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe. Ne bamusaba emmere gye baalulunkanira. Era naye baayogera obubi ku Katonda; Nga baagamba nti, “Katonda ayinza okutuliisiza mu ddungu?” Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Ayinza okutuwa emmere? Anaawa ennyama abantu be? Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala, Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bubuubuuka ku Isiraeri, Kubanga tebakkiriza Katonda, So tebeesiga bulokozi bwe. Naye n'alagira eggulu waggulu, N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu; N'abatonnyesezanga maanu okulya, N'abawanga emmere ey'omu ggulu. Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu: Yabaweerezanga eby'okulya n'abakkusa. N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu; Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiikaddyo. Era n'abatonnyeseza ennyama ennyingi ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja. N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe. Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba. Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe, Obusungu bwa Katonda ne bubabuubuukirako, N'abattamu abasajja abasinga amaanyi, N'azikiriza abavubuka ba Isiraeri. Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne beeyongera okwonoona; Newakubadde nga yabakolera eby'amagero, tebakkiriza. Kyeyava afuula ennaku zaabwe obutaliimu, N'emyaka gyabwe okuba egy'entiisa. Bwe yabattangamu, ne balyoka bamunoonya, Ne beenenya ne bakomawo gy'ali. Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe, Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula. Kyokka baamuwaananga n'emimwa gyabwe, Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe. Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali, So tebaali beesigwa mu ndagaano ye. Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atabazikiriza. Weewaawo, emirundi emingi yakomanga ku busungu bwe, N'atabamalirako kiruyi kye. Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri; ng'empewo egenda n'etedda! Emirundi nga mingi gye baamujeemera mu ddungu, Ne bamunakuwaliza mu lukoola! Ne bamukemanga olutata, Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri. Tebajjukira buyinza bwe, Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe. Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri, N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani; N'afuula emigga gyabwe omusaayi, N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa. N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma; N'ebikere, ebyabazikiriza. Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe, N'emirimu gyabwe eri enzige. N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira, N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira, Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira, N'ebisibo byabwe ne bittibwa laddu. Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, N'ekibiina kya bamalayika okubazikiriza. Yabalaga obusungu bwe, Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa, Naye n'awaayo obulamu bwabwe eri olumbe; N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri, Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu; Naye n'aggyamu abantu be ye ng'endiga, N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo. N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya; Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe. N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula. Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okuba obusika ng'abagerera, N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago. Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera, Ne batagondera biragiro bye. Naye ne bakyuka ne badda emabega ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe; Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba. Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi, Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole. Katonda bwe yawulira bw'atyo, n'asunguwala, N'atamwa nnyo Isiraeri, N'afuluka mu weema ey'omu Siiro, Eweema gye yali ateese mu bantu; N'awaayo amaanyi ge mu busibe, N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe. Era n'agabula abantu be eri ekitala; N'asunguwalira obusika bwe. Omuliro ne gulya abavubuka baabwe; N'abawala baabwe ne bataba na luyimba lwa kufumbirwa. Bakabona baabwe ne bafa ekitala; Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe. Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo, Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge. N'akuba abalabe be ne baddayo emabega, N'abaswaza emirembe gyonna. Era n'agaana eweema ya Yusufu, N'atalonda kika kya Efulayimu; Naye n'alonda ekika kya Yuda, Olusozi Sayuuni lwe yayagala. N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi, Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna. Era n'alonda Dawudi omuddu we, N'amuggya mu bisibo by'endiga, Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo, be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe. Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe; N'abaluŋŋamyanga n'amagezi g'emikono gye. Ayi Katonda, amawanga gazze mu busika bwo; Boonoonye Yeekaalu yo entukuvu; Yerusaalemi bakirese matongo. Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu, Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi. Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi; Ne wataba muntu wa kubaziika. Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe, Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde. Ayi Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro? Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo. Kubanga balidde Yakobo, Ne bazisa ekifo kye. Tojjukira gyetuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe; Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga, Kubanga tujeezebwa nnyo. Otuyambe, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo, Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo. Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika Limanyibwe mu b'amawanga mu maaso gaffe. Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go; Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa; Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe Ekivume kye baakuvuma ggwe, Ayi Mukama. Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo tunaakwebazanga ennaku zonna. Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna. Ayi Omusumba wa Isiraeri, wulira, Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng'ekisibo; Ggwe atuula wakati wa bakerubi, twakire. Amaanyi go galabike mu Efulayimu ne Benyamini ne Manase, Ojje otulokole. Tukomyewo gy'oli, Ayi Katonda; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka. Ayi Mukama Katonda ow'eggye, Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw'abantu bo? Wabaliisa emmere ey'amaziga, Era wabawa amaziga amangi okunywa. Otufudde eky'okusekererwa eri baliraanwa baffe; N'abalabe baffe baseka bokka na bokka. Tukomyewo gy'oli, Ayi Katonda ow'eggye; Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka. Waggya omuzabbibu mu Misiri, Wagobamu amawanga, n'ogusimba. Wasaawa mu maaso gaagwo, Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi. Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo, N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emivule gya Katonda. Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja N'ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga. Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako? Embizzi ez'omu kibira zigwonoona, N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako. Tukyukire nate, tukwegayiridde, Ayi Katonda ow'eggye; Otunuulire wansi ng'oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo, N'ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba, N'ettabi lye weekolera ery'amaanyi. Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala: Bazikirira amaaso go bwe gabanenya. Omukono gwo gube ku musajja ow'omukono gwo ogwa ddyo, Ku mwana w'omuntu gwe weekolera ow'amaanyi. Naffe tuleme okudda emabega okukuvaako. Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo. Tukomyewo gy'oli, Ayi Mukama Katonda ow'eggye; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka. Muyimbirenga waggulu eri Katonda amaanyi gaffe; Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo. Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa, Ennanga ennungi era n'amadinda. Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke, Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga. Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri, Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo. Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa, Bwe yabuna ensi y'e Misiri: Gye nnawulirira olulimi lwe ssaamanya. N'aggya ekibegabega kye ku mugugu: Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo. Wakoowoola bwe wali mu nnaku, nange ne nkuwonya; Ne nkuddiramu mu kifo eky'ekyama eky'okubwatuka; Nakukemera ku mazzi ag'e Meriba. Muwulire, mmwe abantu bange, nange n'abategeeza; Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira! Temuubeenga katonda munnaggwanga mu ggwe; So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna. Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri; Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza. Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange; So Isiraeri teyanjagala n'akatono. Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo. Singa abantu bange bakkiriza okumpulira, Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange! Nandiwangudde mangu abalabe baabwe, Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo. Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde; Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna. Era yandibaliisizza n'obugimu obw'eŋŋaano; Era nandikukkusizza n'omubisi gw'enjuki oguva mu jjinja. Katonda ayimirira mu lukiiko olutukuvu, Asala emisango mu bakatonda. Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi? Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe; Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu. Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga, Mubalokolenga mu mukono gw'omubi. Tebaamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza. Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana. N'ayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo. Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira. Golokoka, Ayi Katonda, osalire ensi omusango, Kubanga amawanga gonna gago. Ayi Katonda, tosirika nate. Toleka kwogera, n'otobaako ky'okola, Ayi Katonda. Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana, N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe. Basala enkwe ku bantu bo, Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke. Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate. Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu; Balagaana endagaano ku ggwe: Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri; Mowaabu, n'Abakagale; Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo, Era n'Obwasuli bwe gasse nabo; Bayambye abaana ba Lutti. Obakole nga bwe wakola Midiyaani; Nga bwewakola Sisera, ne Yabini, ku mugga Kisoni; Abaazikiririra e Endoli; Ne bafuuka ng'obusa ku ttaka. Abakungu baabwe obafaananye nga Olebu ne Zeebu; Weewaawo, abalangira baabwe bonna nga Zeba ne Zalumunna: Abaayogera nti, “Twetwalire fekka amalundiro ga Katonda gabeere gaffe,” Ayi Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu; Ng'ebisasiro empewo bye zitwala. Ng'omuliro ogwokya ekibira, Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi; Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo, Era obatiise n'empewo zo. Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira; Banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama. Bakwatibwenga ensonyi, batyenga ennaku zonna; Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga: Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna. Ekifo ky'obeeramu nga kirungi, Ayi Mukama ow'eggye! Emmeeme yange yeegomba, era ezirise olw'empya za Mukama; Omutima gwange n'omubiri gwange bikaabira Katonda omulamu. Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba, N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako, Bye byoto byo, Ayi Mukama ow'eggye, Kabaka wange, era Katonda wange. Balina omukisa abatuula mu nnyumba yo; Banaakutenderezanga. Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe; Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe. Nga bayita mu kiwonvu eky'amaziga bakifuula ekifo eky'ensulo; Weewaawo, ddumbi akibikkako n'omukisa. Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi, Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni. Ayi Mukama Katonda ow'eggye, wulira okusaba kwange, Otege okutu, Ayi Katonda wa Yakobo. Tunula, Ayi Katonda engabo yaffe, Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta. Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez'obubi. Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo, Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa; Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza. Ayi Mukama ow'eggye, Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe. Mukama, watunuulira ensi yo n'ekisa; Wazza obusibe bwa Yakobo. Wasonyiwa obutali butuukirivu obw'abantu bo, Wabikka ku kibi kyabwe kyonna. Waggyawo obusungu bwo bwonna; Wakyuka n'oleka ekiruyi kyo ekikambwe. Otukyuse, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe. Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe. Onootusunguwaliranga ennaku zonna? Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna? Tolituzuukiza nate, Abantu bo bakusanyukirenga ggwe? Otulage okusaasira kwo, Ayi Mukama, Otuwe obulokozi bwo. Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera; Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n'abatukuvu be, Naye baleme okukyama nate mu busirusiru. Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe. Okusaasira n'amazima birabaganye; Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye. Amazima galose mu ttaka; N'obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu. Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo. Obutuukirivu bunaamukulemberanga; Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo. Otege okutu kwo, Ayi Mukama, onziremu; Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu. Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda. Ayi ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga. Onsaasire, Ayi Mukama; Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde. Osanyuse emmeeme y'omuddu wo; Kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe, Ayi Mukama. Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola. Otege okutu, Ayi Mukama, eri okusaba kwange; Owulire eddoboozi ery'okwegayirira kwange. Ku lunaku olw'okunakuwala kwange ndikukoowoola; Kubanga olinziramu. Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, Ayi Mukama; So tewali bikolwa ebiri ng'ebibyo. Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go, Ayi Mukama; Era galigulumiza erinnya lyo. Kubanga ggwe mukulu, era okola eby'ekitalo, Ggwe Katonda wekka. Onjigirizenga ekkubo lyo, Ayi Mukama; nnaatambuliranga mu mazima go. Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo. Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n'omutima gwange gwonna; Era naagulumizanga erinnya lyo emirembe gyonna. Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi; Era wawonya emmeeme yange mu bunnya obuli wansi ennyo. Ayi Katonda, ab'amalala bangolokokeddeko, N'ekibiina eky'abatemu banoonyezza emmeeme yange, So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe. Naye ggwe, Ayi Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n'amazima amangi. Onkyukire, onsaasire; Owe omuddu wo amaanyi go, Olokole omwana w'omuzaana wo. Ondage akabonero olw'obulungi; Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi. Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye, era onsanyusizza. Ku lusozi olutukuvu Mukama kwe yateeka ekibuga; Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni Okusinga ennyumba zonna eza Yakobo. Eby'ekitiibwa bikwogerwako, Ggwe ekibuga kya Katonda. Njogera ku Lakabu ne Babbulooni nga bali mu abo abammanyi, wamu ne Firisutiya, Ttuulo, ne Esiyoopya; Oyo yazaalirwa omwo, bwe boogera. Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti, “Gundi ne gundi baazaalirwa omwo.” N'oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini. Mukama alibala, bw'aliwandiika amawanga, Nti, “Gundi yazaalirwa omwo.” Abayimba era n'abo abazina, balyogera nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.” Ayi Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange, Nkaabira emisana n'ekiro mu maaso go, Okusaba kwange kuyingire w'oli; Otege okutu kwo eri okukaaba kwange. Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku, N'obulamu bwange busemberera emagombe. Bambalira wamu n'abo abakka mu bunnya; Nninga omuntu atalina mubeezi, Asuulibwa mu bafu, Ali ng'abattibwa abagalamira mu ntaana, B'otojjukira nate; Era bayawukana n'omukono gwo. Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo, Mu bifo eby'enzikiza, mu buziba. Obusungu bwo bunyigiriza nnyo, Era ombonyaabonyezza n'amayengo go gonna. Onjawukanyirizza wala n'abo be mmanyi; Onfudde ekitama eri abo, Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu. Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala, Nkukaabira buli lunaku, Ayi Mukama, Ntega engalo zange eri ggwe. Oliraga abafu eby'amagero? Abaafa baligolokoka balikutendereza? Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe? N'obwesigwa bwo mu kuzikirira? Eby'amagero byo birimanyirwa mu kizikiza? N'obutuukirivu bwo mu nsi ey'okwerabira? Naye ggwe, Ayi Mukama, gwe nkaabira, Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go. Mukama, kiki ekikusuuza emmeeme yange? Kiki ekikunkwesa amaaso go? Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange. Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo. Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko; Entiisa zo zinzingizizza. Banneetooloola ng'amazzi okuzibya obudde; Bantaayiza eruuyi n'eruuyi wamu. Abanjagala ne mikwano gyange obaatadde wala nange, N'abo be mmanyi mu kizikiza. Nnaayimbanga ku kwagala kwa Mukama obutaggwaawo ennaku zonna; N'akamwa kange nnaategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo. Kubanga njogedde nti okwagala kwo tekuggwaawo emirembe n'emirembe; N'obwesigwa bwo bunywevu mu ggulu. Wagamba nti, “nkoze endagaano n'omulonde wange,” Ndayiridde Dawudi omuddu wange; Ezzadde lyo naalinywezanga ennaku zonna, N'entebe yo nnaagizimbiranga ddala emirembe gyonna. N'eggulu linaatenderezanga eby'amagero byo, Ayi Mukama; Era n'obwesigwa bwo mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu. Kubanga ani mu ggulu gwe bayinza okugeraageranya ne Mukama? Ani ku baana b'abakulu ali nga Mukama, Ye Katonda atiibwa ennyo mu lukiiko olw'abatukuvu, Agwana okutiibwa okusinga bonna abamwetooloola? Ayi Mukama Katonda ow'eggye, Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, Ayi Mukama, Ojjudde wenna obwesigwa. Ggwe ofuga amalala g'ennyanja: Amayengo gaayo bwe gagolokoka, ogateesa. Wabetentera ddala Lakabu; Wasaasaanya abalabe bo n'omukono ogw'amaanyi go. Eggulu liryo, era n'ensi yiyo, Ebintu byonna n'okujjula kwabyo wabiteekawo. Obukiikakkono n'obwa ddyo gwe wa butonda, Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo. Olina omukono ogw'amaanyi. Engalo zo za maanyi, n'omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa. Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo; Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go. Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu; Ayi Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go. Basanyukira erinnya lyo okuzibya obudde; Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo. Kubanga ggwe oli kitiibwa ky'amaanyi gaabwe; N'olw'ekisa kyo ejjembe lyaffe linaagulumizibwanga. Kubanga Mukama ye nannyini ngabo yaffe; Era Omutukuvu wa Isiraeri ye nannyini kabaka waffe. Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa, N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi; Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu. Ndabye Dawudi omuddu wange; Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu. Engalo zange zinaanywezebwanga gy'ali; N'omukono gwange gunaamuwanga amaanyi. Omulabe taamujoogenga, Newakubadde omwana w'obubi taamubonyeebonyenga. Nange nnaasuulanga abanaalwananga naye mu maaso ge, Era naakubanga abanaamukyawanga. Naye obwesigwa bwange n'okusaasira kwange binaabanga naye; Ne mu linnya lyange ejjembe lye linaagulumizibwanga. Era nnaateekanga omukono gwe ku nnyanja, N'omukono gwe ogwa ddyo ku migga. Anankaabiranga nti Ggwe kitange, Katonda wange, era ejjinja ery'obulokozi bwange. Era ndimufuula omubereberye wange, Asinga bakabaka ab'ensi. Naamuterekeranga okusaasira kwange emirembe n'emirembe, N'endagaano yange eneenyweranga gy'ali. Era naawangaazanga ezzadde lye emirembe gyonna, N'entebe ye ng'ennaku ez'eggulu. Abaana be bwe banaalekanga amateeka gange, Ne batatambuliranga mu misango gyange; Bwe banaanyoomanga ebiragiro byange, Ne batakwatanga mateeka gange; Nange najjiranga okwonoona kwabwe n'omuggo, N'obutali butuukirivu bwabwe n'okukuba. Naye siimuggirengako ddala kusaasira kwange, So siiganyenga bwesigwa bwange okuweebuuka. Siimenyenga ndagaano yange, Sijjululenga kigambo ekyava mu mimwa gyange. Omulundi gumu nalayira obutuukirivu bwange; Siimulimbenga Dawudi. Ezzadde lye linaabeereranga emirembe gyonna, N'entebe ye ng'enjuba mu maaso gange. Eneenywezebwanga ennaku zonna ng'omwezi, Era ng'omujulirwa omwesigwa mu ggulu. Naye wasuula n'ogoba N'osunguwalira oyo gwe wafukako amafuta. Wakyawa endagaano ey'omuddu wo. Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi. Wamenyaamenya enkomera ze zonna; Wayabya ebigo bye. Bonna abayita mu kkubo bamunyaga, Afuuse ekivume eri baliraanwa be. Ogulumizizza omukono ogwa ddyo ogw'abalabe be; Osanyusizza abamukyaye bonna. Weewaawo, okyamizza obwogi bw'ekitala kye, So tomuyimirizizza mu lutalo. Omazeewo okumasamasa kwe, N'osuulira ddala entebe ye wansi. Osaze ku nnaku ez'obuvubuka bwe, N'omuswaza. Olituusa wa, Ayi Mukama, okwekwekanga ennaku zonna? Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro? Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono; Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu! Muntu ki omulamu atalifa? Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe? Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa, Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo? Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa; Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi; Abalabe bo kye bavuma, Ayi Mukama, Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta. Mukama yeebazibwenga emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina. Mukama, ggwe oli kifo kyaffe eky'okutuulamu Mu mirembe gyonna. Ensozi nga tezinnatondebwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu ebirimu, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda. Abantu obazzayo mu nfuufu; Era oyogera nti, “ Muddeyo, gye mwasibuka mmwe abaana b'abantu.” Kubanga emyaka olukumi (1,000) mu maaso go Giri ng'olwajjo olwayita, Era ng'ekisisimuka ky'ekiro. Obatwalira ddala nga mukoka; bali nga kirooto: Enkya bali ng'omuddo ogumera. Enkya guloka, gumera; Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose. Kubanga obusungu bwo butumalawo, Era bw'onyiiga ne tweraliikirira. Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu maaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama obitadde w'obirabira. Kubanga ennaku zaffe zonna zisalwako obusungu bwo; Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo. Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu (70), Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana (80); Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula. Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo, N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa? Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, Tulyoke tufune omutima omugezigezi. Okomewo, Ayi Mukama; olituusa wa? Era okwatirwe ekisa abaddu bo. Otukkuse enkya n'okusaasira kwo; Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna. Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyabonyezangamu, Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi. Ebikolwa byo eby'obulokozi birabikirenga ku baddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikirenga ku baana baabwe. Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe: Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe: Weewaawo, emirimu gy'emikono gyaffe oginywezenga. Oyo atuula mu kifo eky'oyo ali waggulu ennyo, Anaabeeranga wansi w'ekisiikirize eky'Omuyinza w'ebintu byonna. Nnaayongeranga ku Mukama nti, “Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.” Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw'oyo akuyigga, Ne mu kawumpuli omubi. Anaakubikkangako n'ebiwaawaatiro bye, Era wansi w'ebyoya bye w'onoddukiranga: Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma. Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akakulumba emisana; Olw'olumbe oluttira mu kizikiza, Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu. Abantu olukumi (1,000) baligwa ne battibwa ku lubiriizi lwo, Era omutwalo (10,000) ne bagwa ku mukono gwo ogwa ddyo; Naye ggwe okuzikirira tekulikusemberera. Naye olitunula n'amaaso go, Oliraba empeera y'ababi. Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli kiddukiro kyange! Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula; Tewali kabi akalikubaako, So tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo. Kubanga alikulagiririza bamalayika be, Bakukuume mu makubo go gonna. Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja. Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa; Olisamba empologoma ento n'omusota wansi w'ebigere byo. Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange. Alinkaabira, nange ndimuyitaba; Nnaabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga: Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa. Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu, Era ndimulaga obulokozi bwange. Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo: Okwolesanga ekisa kyo enkya, N'obwesigwa bwo buli kiro. N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi (10), era n'amadinda: N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga. Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo. Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama! Ebirowoozo byo nga bye buziba nnyo. Omuntu eyasiruwala tamanya kino, So nga n'omusirusiru takitegeera: nti ababi ne bwe baloka ng'omuddo, Era nga abakozi b'obubi bonna bwe babeera; bateegekeddwa okuzikirira emirembe gyonna: Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwanga emirembe n'emirembe. Kubanga, laba, abalabe bo, Ayi Mukama, Kubanga, laba, abalabe bo, balizikirira; Abakozi b'obubi bonna balisaasaanyizibwa. Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng'ery'embogo: Nfukiddwako amafuta amaggya. Era eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange, Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako. Omutuukirivu alyera ng'olukindu; Alikula ng'omuvule mu Lebanooni. Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama Bakulira mu mpya za Katonda waffe. Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; Balijjula amazzi, baligejja: Balage nga Mukama mutuukirivu; Oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu. Mukama afuga; ayambadde obukulu: Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi: Era ensi ennywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana. Entebe yo yanywera edda n'edda lyonna: Obeererawo okuva emirembe n'emirembe. Amazzi gayimusizza, Ayi Mukama, Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago; Amazzi gayimusa amayengo gaago. Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi, Amayengo amanene ag'oku nnyanja, Mukama ali waggulu asinza amaanyi. Bye wategeeza bya mazima ddala: Obutukuvu busaanira ennyumba yo, Ayi Mukama, emirembe n'emirembe. Ayi Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana, Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala. Yimuka, ggwe asalira ensi emisango: Owe ab'amalala ebibagwanira. Mukama, ababi balituusa wa, Ababi balituusa wa okuwangula? Boogera ebitaliimu, n'eby'amalala: Abakozi b'obubi bonna beenyumiriza: Bamenyaamenya abantu bo, Ayi Mukama, Era babonyaabonya obusika bwo. Batta nnamwandu ne munnaggwanga, Era batta n'atalina kitaawe. Ne boogera nti, “Mukama taabiraba, So Katonda wa Yakobo taabirowooza.” Mutegeere, mmwe abali ng'ensolo mu bantu! Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi? Eyateekawo okutu, ye tawulira? Eyabumba eriiso, ye talaba? Abonereza amawanga, talibakangavvula? Ayigiriza abantu amagezi, Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu, nti biri nga mukka bukka. Alina omukisa omuntu gw'obonereza, Ayi Mukama, Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go; Olyoke omuwummuze aleme okulaba ebiro eby'ennaku, Okutuusa ababi lwe balisimirwa obunnya. Kubanga Mukama talisuula bantu be, So talireka busika bwe. Kubanga obwenkanya buliddira abatuukirivu, Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera. Ani anaasituka antaase ku abo abakola obubi? Ani anaayimirira amponye abakozi b'ebitali bya butuukirivu? Singa Mukama teyali mubeezi wange, Emmeeme yange yandibadde yagenda dda mu nsi ey'okusirika. Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera, Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira. Ebirowoozo by'omutima bwe biba nga bingi; Okubudabuda kwo kusanyusa emmeeme yange. Abafuga ababi balissa ekimu naawe, wadde abalagira eby'ettima mu mateeka? Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu, Ne basalira atalina musango okuttibwa. Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu; Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna. Era alikomyawo ku bo obutali butuukirivu bwabwe bo, Era alibazikiriza mu bubi bwabwe; Mukama Katonda waffe alibazikiriza. Mujje, tumuyimbire Mukama: Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe. Tujje mu maaso ge n'okwebaza, Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli. Kubanga Mukama ye Katonda omukulu, Era Kabaka omukulu asinga bakatonda bonna. Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe; N'entikko z'ensozi nazo zizze. Ennyanja yiye, era yagikola; N'emikono gye gye gyabumba olukalu. Mujje, tusinze, tuvuuname; Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe: Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba, Ku lunaku lwe baali e Masa mu ddungu: Bajjajjammwe bwe bankema, ne bangeza; Newakubadde nga bali balabye omulimu gwange. Emyaka ana (40) nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebaamanya makubo gange: Kyennava ndayira mu busungu bwange, Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna. Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye: Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku. Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga, N'eby'amagero bye eri abantu bonna. Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna. Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu. Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge: Amaanyi n'obulungi biri mu watukuvu we. Mumutendereze Mukama, mmwe ebika byonna eby'amawanga, Mumutendereze Mukama ow'ekitiibwa n'amaanyi. Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze. Kale mumusinze Mukama mu butukuvu bwe. Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna! Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango mu bwenkanya. Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna; Emiti gyonna egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu; Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; Kubanga ajja okusalira ensi emisango: Alisalira ensi emisango mu bwenkanya, Aliramula amawanga n'amazima ge. Mukama afuga; ensi esanyuke; N'ebizinga byonna bijaguze. Ebire n'ekizikiza bimwetooloola: Obutuukirivu n'obwenkanya bye binyweza entebe ye. Omuliro gumukulembera, Gwokya abalabe be eruuyi n'eruuyi. Ebimyanso bye byamulisa ensi: Ensi n'ebiraba n'ekankana. Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama, Awali Mukama w'ensi zonna. Eggulu libuulira obutuukirivu bwe, N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye. Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna. Sayuuni yawulira n'asanyuka, N'abawala ba Yuda ne bajaguza; Olw'emisango gyo, Ayi Mukama. Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna: Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna. Kale mmwe abaagala Mukama, mukyawe obubi: Akuuma emmeeme z'abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw'omubi. Omusana gwakira omutuukirivu, N'essanyu eri oyo alina omutima ogw'amazima. Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya; Kubanga akoze eby'amagero: Engalo ze eza ddyo, n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi. Mukama amanyisizza obulokozi bwe: Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g'amawanga. Ajjukidde okusaasira kwe n'obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isiraeri: Enkomerero zonna ez'ensi zirabye obulokozi bwa Katonda waffe. Muyimbe n'eddoboozi ery'essanyu eri Mukama, mmwe ensi zonna: Muleete oluyimba muyimbe olw'essanyu, weewaawo, muyimbe eby'okutendereza. Muyimbe okutendereza Mukama n'ennanga; N'ennanga era n'eddoboozi eriyimba. N'amakondeere n'eddoboozi ery'akagombe Muleete eddoboozi ery'essanyu mu maaso ga Kabaka, Mukama. Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu; Amazzi gakube mu ngalo; Ensozi ziyimbire wamu olw'essanyu; Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'obutuukirivu. Mukama ye kabaka afuga; amawanga gakankane! Atuula ku ntebe ye eri ku bakerubi; ensi esagaasagane! Mukama mukulu mu Sayuuni; Era ali waggulu okusinga amawanga gonna. Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa. Ye ye mutukuvu. Kabaka ow'obuyinza amazima g'oyagala; era osala omusango mu bwenkanya; Ggwe onyweza obutuukirivu, Olamula omusango mu mazima n'obutuukirivu mu bantu bo Yakobo. Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Era musinzizenga ku ntebe ye w'ateeka ebigere bye! Ye ye mutukuvu! Musa ne Alooni bamu ku bakabona be, Ne Samwiri yali omu ku abo abakoowoolanga erinnya lye; Baakaabirira Mukama, n'abayitaba. Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire: Baakwata bye yategeeza, n'ekiragiro kye yabawa. Wabaddamu, Ayi Mukama Katonda waffe: Wali Katonda abasonyiwa, Newakubadde nga wawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe. Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu; Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu. Muleetere Mukama eddoboozi ery'essanyu, mmwe ensi zonna! Muweereze Mukama n'essanyu! Mujje mu maaso ge n'okuyimba! Mumanye nga Mukama ye Katonda: Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe; Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye. Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye. Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera; N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna. Nnaayimbanga ku bwesigwa n'amazima: Ggwe, Ayi Mukama, gwe nnaayimbiranga okukutendereza. Nnaatambulanga n'amagezi mu kkubo ery'obutuukirivu: Woowe, olijja ddi gye ndi? Nnaatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde. Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: Nkyawa omulimu gw'abo abakyama; Tegwegattenga nange. Omutima ogutawulira gulindekera ddala: Sirimanya kintu kyonna kibi. Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'amuzikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga. Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi, batuulenga wamu nange: Atambulira mu kkubo ery'obutuukirivu ye anaampeerezanga. Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange: Ayogera ebitali bya mazima taabeerenga mu maaso gange. Buli nkya nnaazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi; Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama. Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, Okukaaba kwange kutuuke gy'oli. Tonkisa maaso go ku lunaku olw'okunakuwala kwange: Otege okutu kwo we ndi; Ku lunaku lwe nkoowoolerako ompitabe mangu. Kubanga ennaku zange ziggwaawo ng'omukka, N'amagumba gange gookebwa ng'omumuli. Omutima gwange gwokeddwa, guwotose ng'omuddo; Kubanga nneerabira n'okulya emmere yange. Olw'eddoboozi ery'okusinda kwange Amagumba gange geegasse n'omubiri gwange. Nninga kimbala ow'omu ddungu; Nfuuse ng'ekiwuugulu eky'omu nsiko. Ngalamira nga ntunula, era ninga, Enkazaluggya etuula ku kitikkiro ky'ennyumba yokka. Abalabe bange bazibya obudde nga banvuma; Abanjerega, bakozesa erinnya nga bakolima. Kubanga ndidde evvu ng'omugaati, Era ntabudde kye nnywedde n'amaziga. Olw'okunyiiga kwo n'obusungu bwo: Kubanga wannonda n'onsuula. Ennaku zange ziri ng'ekisiikirize ekiggwaawo; Era mpotose ng'omuddo. Naye ggwe, Ayi Mukama, onoobeereranga ennaku zonna: N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna. Oligolokoka, olisaasira Sayuuni: Kubanga obudde butuuse okumusaasira, Weewaawo, obudde obwalagirwa butuuse. Kubanga abaddu bo basanyukira nnyo Sayuuni, Era basaalirwa okulaba nga bwe kizikiridde. Bwe gatyo amawanga gonna galitya erinnya lya Mukama, Ne bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kyo: Kubanga Mukama azimbidde ddala Sayuuni, Alabikidde mu kitiibwa kye; Alowoozezza ku kusaba kw'abo abafiiriddwa, So tanyoomye kusaba kwabwe. Ekyo kiwandiikirwe ab'emirembe egirijja: N'eggwanga eriritondebwa liritendereza Mukama. Kubanga atunuulidde wansi ng'ayima ku watukuvu we awagulumivu; Mukama yalaba ensi ng'asinziira mu ggulu; Okuwulira okusinda kw'omusibe; Okusumulula abo abateekerwawo okufa; Abantu balyoke batenderezenga erinnya lya Mukama mu Sayuuni, N'ettendo lye mu Yerusaalemi; Amawanga gonna galikuŋŋaana awamu, N'amatwale, okusinza Mukama. Mukama yakendeeza ku maanyi gange nga nkyali muvubuka; Ennaku zange azisazeeko. Ne njogera nti Ayi Katonda wange, tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo: Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna. Edda n'edda ennyo watonda ensi; N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo. Ebyo biriggwaawo, naye ggwe onoobeereranga: Weewaawo, ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; Olibiwaanyisa ng'ekyambalo, n'ebyo biriwaanyisibwa: Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma. Abaana b'abaddu bo banaabeerangawo. N'ezzadde lyabwe linaanywezebwanga mu maaso go. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna: Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna; Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi: Akkusa akamwa ko ebirungi; Obuvubuka bwo ne budda buggya ng'obw'empungu. Mukama akola eby'obutuukirivu, Asala emisango mu mazima olw'abo bonna abajoogebwa. Yamanyisa Musa amakubo ge, N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri. Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi. Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna. Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya. Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atuggyako ebyonoono byaffe, ne bitubeera wala. Nga kitaawe wa baana bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya. Kubanga amanyi omubiri gwaffe bwe gwakolebwa; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu. Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo; Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo. Kubanga empewo zikikuntako, ne kibanga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate. Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya, N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana; Eri abo abakwata endagaano ye, N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola. Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; N'obwakabaka bwe bufuga byonna. Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza by'alagira, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye! Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye; Abaweereza be, abakola by'ayagala. Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye, Mu bifo byonna by'afugiramu: Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; Oyambadde ekitiibwa n'obukulu. Yeebikka omusana ng'ekyambalo; Atimba eggulu ng'eweema: Asimba empagi ez'enju ze mu mazzi; Afuula ebire eggaali lye; Atambulira ku biwaawaatiro by'empewo: Afuula ababaka be empewo; N'abaweereza be omuliro ogwaka: Eyasimba emisingi gy'ensi, Ereme okusagaasagananga emirembe gyonna. Wagibikkako ennyanja ng'ekyambalo; Amazzi ne gaanjaala waggulu w'ensozi. Ggwe bwe waganenya ne gadduka; Eddoboozi ery'okubwatuka kwo bwe lyawulirwa ne ganguwa okugenda; Gaalinnya ku nsozi, gaaserengetera mu biwonvu, Ne gatuuka mu kifo kye wagateekerawo. Wagalagira ensalo gye gatayinza kusukkako; Galeme okudda nate okubikka ku nsi. Aleeta enzizi mu biwonvu; Zikulukuta mu nsozi: Zinywesa ensolo zonna ez'omu nsiko; Entulege ne ziwona ennyonta. Ennyonyi ez'omu bbanga zizimba ebisu byazo ne zituula omwo, Ziyimbira mu matabi g'emiti. Enkuba eva mu bire ogitonnyesa ku nsozi: Ensi n'ekkuta ebibala eby'emirimu gyo. Amereza ente essubi, N'ebimera ebigasa abantu; Balyoke baggyenga emmere mu ttaka; N'omwenge ogusanyusa omutima gw'abantu, N'amafuta ganyirizenga amaaso ge, N'emmere ewa omuntu amaanyi omutima gwe. Emiti gya Mukama enkuba egifukirira; Emivule gya Lebanooni gye yasimba; Ennyonyi gye zikoleramu ebisu byazo: Kasida, emiberoosi ye nnyumba ye. Ensozi empanvu ziba za mbulabuzi; Amayinja kye kiddukiro ky'obumyu. Yateekerawo omwezi ebiro: Enjuba emanyi essaawa y'okugwa kwayo. Ggwe oleeta ekizikiza, ekiro ne kibaawo; Ensolo zonna ez'omu kibira mwe zifulumira nga zisooba. Empologoma ento ziwuluguma nga ziyigga kye zinaalya, Era zinoonya emmere yaazo eri Katonda. Enjuba n'evaayo, ne zigenda, Ne zeebaka mu mpuku zaazo. Abantu ne bagenda ku mulimu gwabwe Ne bakola okutuusa akawungeezi. Ayi Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi: Ensi ejjudde obugagga bwo. Ennyanja eri, ennene engazi, Omuli ebyewalula ebitabalika, Ebisolo ebitono era n'ebinene. Amaato gaseeyeeyerako; Lukwata naye mwali, gwe wakola okuzannyira omwo. Ebyo byonna bikulindirira ggwe, Obiwe emmere yaabyo mu ntuuko zaayo. Gy'obiwa gye bikuŋŋaanya; Oyanjuluza engalo zo, ne bikkuta ebirungi. Okisa amaaso go, ne byeraliikirira; Obiggyamu omukka gwabyo, ne bifa, Ne bidda mu nfuufu mwe byava. Otuma omwoyo gwo, ne bitondebwa; Era ensi n'ogizza buggya. Ekitiibwa kya Mukama kibeere kya kubeerera; Mukama asanyukire emirimu gye: Atunuulira ensi, n'ekankana; Akwata ku nsozi, ne zinyooka. Nnaayimbiranga Mukama nga nkyali mulamu: Nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo. Okulowooza kwange kumusanyusenga: Nange nnaasanyukiranga Mukama. Ababi bazikirire baggweewo ku nsi, Aboonoonye baleme okubeerawo nate. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Mumutendereze Mukama. Mumwebazenga Mukama, Mukoowoole erinnya lye; Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga. Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza; Mwogerenga ku by'amagero bye byonna. Mwenyumirizenga olw'erinnya lye ettukuvu: Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyukenga. Munoonyenga Mukama n'amaanyi ge; Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna. Mujjukirenga eby'amagero bye bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango gye yasala; Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be. Oyo ye Mukama Katonda waffe: Emisango gye gibuna ensi zonna. Ajjukira endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi (1,000); Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka; N'ekyo nnaakinyweza eri Yakobo okuba etteeka, Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo: Ng'ayogera nti, “Mmwe ndibawa ensi ya Kanani, ebeere omugabo ogw'obusika bwammwe,” Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe: Weewaawo, abatono ennyo, era nga batambuze mu nsi omwo; Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu, Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala. Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe; Ng'ayogera nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange!” N'ayita enjala okugwa ku nsi; N'amenya omuggo gwabwe gwonna, ye mmere yaabwe. Yabakulembeza omuntu; Yusufu yatundibwa okuba omuddu: Ebigere bye baabirumya enjegere; Yagalamira ng'asibiddwa n'ebyuma: Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira; Ekigambo kya Mukama kyamukemanga. Kabaka yatuma n'amusumulula; Ye yafuga amawanga, n'amuteera ddala. N'amufuula omukulu w'ennyumba ye, N'amuteresa ebintu bye byonna: Okutendeka abalangira be nga bw'ayagala, N'okuyigiriza abakungu be amagezi. Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri; Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu. N'ayongera nnyo abantu be, N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe. N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be, Okukuusakuusa abaddu be. N'atuma Musa omuddu we, Ne Alooni gwe yalonda. Ne bakola obubonero bwe, mu Misiri; N'eby'amagero mu nsi ya Kaamu. N'aleeta ekizikiza, ekizikiza ne kikwata; Naye ne bajeemera ebigambo bye. N'afuula amazzi gaabwe omusaayi, N'atta ebyennyanja byabwe. Ensi yaabwe n'ejjula ebikere, ne biyingira ne mu bisenge bya bakabaka baabwe. N'ayogera, ebitole eby'ensowera ne bijja, N'ensekere ne zibuna mu nsalo zaabwe zonna. N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba, N'okumyansa ne kubuna mu nsi yaabwe. Era n'akuba n'emizabbibu n'emitiini gyabwe; N'amenya emiti egy'omu nsalo zaabwe. N'ayogera, enzige ne zijja, Ne bulusejjera ne buba bungi, omuwendo gwabwo tegwabalika, Ne bulya buli muddo ogwali mu nsi yaabwe, Ne bulya ebibala eby'ettaka lyabwe. Era n'atta n'ababereberye bonna abaali mu nsi yaabwe, Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna. N'abaggyamu Abaisiraeri nga balina effeeza n'ezaabu: So tewaali muntu munafu n'omu mu bika byabwe. Misiri n'esanyuka bwe baagenda; Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko. N'ayanjuluza ekire okubabikkangako; N'omuliro gubaakirenga ekiro. Ne basaba, n'aleeta obugubi, N'abakkusa emmere ey'omu ggulu. N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika; Ne gakulukuta mu bifo ebikalu ng'omugga. Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu, Ne Ibulayimu omuddu we. N'aggyamu abantu be n'essanyu, N'abalonde be n'okuyimba. N'abawa ensi ez'amawanga; Ne batwala ne balya emirimu egy'amawanga: Balyoke bakwatenga ebiragiro bye, Beekuumenga amateeka ge. Mumutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama! Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna! Ani ayinza okwatula ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama, Oba okwolesa ettendo lye lyonna? Balina omukisa abakwata by'alagira, N'abo abakola eby'obutuukirivu mu biro byonna! Onjijukire, Ayi Mukama, n'ekisa ky'olina eri abantu bo; Nkwegayiridde, onjijire n'obulokozi bwo: Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa, Nsanyukire essanyu ery'eggwanga lyo. Neenyumirize wamu n'obusika bwo. Twayonoona ffe ne bajjajjaffe, Twakola ebitali bya butuukirivu, twakola obubi. Bajjajjaffe tebaategeera bya magero byo mu Misiri; Ne batajjukira kusaasira kwo okungi; Naye ne bajeemera ku nnyanja, ku Nnyanja Emmyufu. Era naye n'abalokola olw'erinnya lye, Amanyise obuyinza bwe obungi. Era n'alagira Ennyanja Emmyufu, n'ekalira: Awo n'abayisa mu buziba nga wakalu, nga bali ng'abayita mu ddungu. N'abalokola eri omukono gw'oyo eyabakyawa, N'abanunula mu mukono gw'omulabe. Amazzi ne gabikka ku balabe baabwe: Ne watasigalawo n'omu. Ne balyoka bakkiriza ebigambo bye; Ne bayimba okumutendereza. Naye beerabira mangu emirimu gye; Tebaalindirira kuteesa kwe: Naye ne beegomba nnyo nga bali mu lukoola, Ne bagezesa Katonda mu ddungu. N'abawa bye baasaba; Naye n'abaleetera endwadde enzibu nezireta obukovvu mu mmeeme yaabwe. Era ne bakwatirwa Musa obuggya nga bali mu lusiisira, Ne Alooni omutukuvu wa Mukama. Ensi n'eyasama n'emira Dasani. N'eziika Abiraamu n'ekibiina kye. Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe; Ennimi zaagwo ne zookya ababi. Ne bakolera ennyana mu Kolebu, Ne basinza ekifaananyi ekisaanuuse. Bwe batyo ne bawaanyisa ekitiibwa kye bandiwadde Katonda; Okuba ekifaananyi ky'ente erya omuddo. Ne beerabira Katonda omulokozi waabwe, Eyakolera ebikulu mu Misiri; Eby'amagero mu nsi ya Kaamu, N'eby'entiisa ku Nnyanja Emmyufu. Kyeyava ayogera ng'alibazikiriza, Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge n'amwegayirira, Okuziyiza obusungu bwe, aleme okubazikiriza. Weewaawo, baanyooma ensi ey'okwesiima, Tebakkiriza kigambo kye; Naye ne beemulugunya mu weema zaabwe, Ne batawulira ddoboozi lya Mukama. Kyeyava ayimusa omukono gwe gyebali, Ng'alibasuulira mu ddungu: Era ng'aligwisa ezzadde lyabwe mu mawanga, Era ng'alibasaasaanya mu nsi. Era ne beegatta ne Baalipyoli, Ne balya ssaddaaka ez'abafu. Bwe batyo bwe baamusunguwazanga n'ebikolwa byabwe; Kawumpuli n'agwa mu bo. Finekaasi n'alyoka ayimirira n'abonereza abaasobya: Kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo. Ekyo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Okutuusa emirembe gyonna egitaliggwaawo. Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag'e Meriba, Era bwatyo Musa n'alaba obubi ku lwabwe: Kubanga baanakuwaza omwoyo gwe, N'ayogera ebitali bya magezi n'emimwa gye. Tebaazikiriza mawanga, Nga Mukama bye yabalagira; Naye ne beegatta n'amawanga, Ne bayiga empisa zaabwe: Ne baweereza ebifaananyi byabwe; Ebyabafuukira ekyambika. Weewaawo, baawangayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bassetaani. Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi, gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe, Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani; Ensi n'eyonooneka n'omusaayi. Bwe batyo ne babaako empitambi olw'emirimu gyabwe, Ne bagenda bayenda mu bikolwa byabwe. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka eri abantu be, N'atamwa obusika bwe. N'abawaayo mu mukono gw'amawanga; N'abo abaabakyawa ne babafuga. Era abalabe baabwe ne babajooga, Ne bajeemulwa wansi w'omukono gwabwe. Emirundi emingi yabawonya; Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe, Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe. Era naye n'atunuulira ennaku zaabwe, Bwe yawulira okukaaba kwabwe: Olw'obulungi bwe najjuukira endagaano ye, Ne yejjusa ng'okusaasira kwe bwe kuli okungi. Era n'abaleetera okusaasirwanga; Bonna abaabatwalanga mu busibe. Otulokole, Ayi Mukama Katonda waffe, Otukuŋŋaanye tuve mu mawanga, Okwebazanga erinnya lyo ettukuvu, N'okujagulizanga ettendo lyo. Yeebazibwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Era abantu bonna boogere nti Amiina. Mumutendereze Mukama. Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo, Be yanunula mu mukono gw'omulabe; N'abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi, Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, Mu bukiikakkono ne mu bwa ddyo. Abamu baataataaganira mu ddungu omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu. Baalumibwa enjala n'ennyonta, Emmeeme yaabwe n'ezirika mu bo. Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abawonya mu kweraliikirira kwabwe. Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu, Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu. Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba, N'emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi. Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'okufa, Nga basibibwa n'ennaku n'ekyuma; Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda, Ne banyooma okuteesa kw'oyo ali waggulu ennyo; Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba. Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe. N'abaggya mu kizikiza n'ekisiikirize eky'okufa, N'amenyaamenya enjegere zaabwe. Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! Kubanga yamenya enzigi ez'ebikomo, N'atemera ddala ebisiba eby'ebyuma. Abasirusiru olw'okwonoona kwabwe, N'olw'obutali butuukirivu bwabwe, babonyaabonyezebwa. ne batamwa emmere yonna yonna; Ne basemberera emiryango egy'okufa. Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe. Atuma ekigambo kye, n'abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe. Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! Era bawengayo ssaddaaka ez'okwebaza, Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba. Abaserengetera ku nnyanja mu maato, Abakola emirimu awali amazzi amangi; Abo balaba ebikolwa bya Mukama, N'eby'amagero bye mu buziba. Kubanga alagira, n'akunsa omuyaga, Oguyimusa amayengo gaagwo. Balinnya mu ggulu, ne bakka nate mu ddubi: Emmeeme yaabwe esaanuuka olw'ennaku. Beesunda eruuyi n'eruuyi, era batagatta ng'omutamiivu, N'amagezi gonna nga gababuze. Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe. Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka. Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula; N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu. Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu! Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery'abantu, Era bamutenderezenga awali ekituuti eky'abakadde. Afuula emigga eddungu, N'enzizi azifuula ettaka ekkalu; Ensi ebala agifuula olukoola olw'omunnyo, Olw'obubi bwabo abatuula omwo. Eddungu alifuula ekidiba eky'amazzi, N'ensi enkalu ensulo ez'amazzi. Omwo mw'atuuza abalumwa enjala, Balongoosenga ekibuga eky'okutuulamu; Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu, Beefunirenga ebibala eby'ekyengera. Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera. Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa Olw'okujoogebwa, n'okweraliikirira, n'okunakuwala. Anyoomesa nnyo abalangira, Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo. Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku. N'amukolera ebika ng'ekisibo. Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka; N'obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo. Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama. Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; Omutima gwange munywevu! Naayimba, ne nkusuuta, okutendereza, zuukuuka, ggwe mwoyo gwange! Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga: Nze nnaakeera nnyo okuzuukuka. Nnaakwebazanga ggwe, Ayi Mukama, mu mawanga; Era nnaayimbanga okukutendereza mu bantu. Kubanga okusaasira kwo kutuuka ku ggulu, N'amazima go gatuuka ku bire. Ogulumizibwe, Ayi Katonda, okusinga eggulu; N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna. Omwagalwa wo alyoke awone, Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu. Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu, Olw'okugulumizibwa, ndisala mu Sekemu, era ndigabaanyamu ekiwonvu ekya Sukkosi. Gireyaadi wange; Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka. Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto yange, Ndyogerera waggulu ku Firisutiya. Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu? Totusudde, Ayi Katonda? So totabaala, Ayi Katonda, n'eggye lyaffe. Otuyambe eri omulabe, Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu. Katonda ye alitukoza eby'obuzira, Kubanga oyo ye alinnyirira abalabe baffe. Tosirika, Ayi Katonda gwe ntendereza; Kubanga abantu ababi banjogeddeko eby'obulimba. Boogedde nange n'olulimi olulimba. Banfukumulidde ebigambo eby'obukyayi, Ne bannumbagana awatali nsonga. Olw'okwagala kwange bafuuse balabe bange; Naye nze nsaba. Era bansasudde obubi olw'obulungi, N'okukyawa olw'okwagala kwange. Omusseeko omuntu omubi, Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo. Bw'asalirwa omusango, afulume nga gumusinze; Era okusaba kwe kufuuke ekibi. Ennaku ze zibe ntono; Omulala alye obukulu bwe. Abaana be babe nga tebalina kitaabwe, Ne mukazi we nnamwandu. Abaana be babe mmomboze, basabirizenga; Bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula. Amubanja ajje awambe byonna by'alina; B'atamanyi banyageenyage emirimu gye. Anaamwongerako ekisa amubule; wadde akolera eby'ekisa abaana be baalese naye abule. Ezzadde lye lizikirizibwe; Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe. Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama; So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa. Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna, Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi. Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'abo abalina omutima ogunakuwadde n'abatuusa ne ku kufa. Yayagalanga nnyo okukolima, leka ebikolimo bimuddire, Teyayagalanga mikisa, kale gimwesambire ddala! Yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Kakimuyingire mu nda ye ng'amazzi, N'emumagumba ge ng'amafuta. Kubenga gy'ali ng'ekyambalo ky'ayambala, Era kubenga ng'olukoba lwe yeesiba ennaku zonna. Eyo ye mpeera ey'abalabe bange eva eri Mukama, N'abo aboogera obubi ku mmeeme yange. Naye olongoose ebyange, Ayi Katonda Mukama, olw'erinnya lyo, Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye, Kubanga nze ndi mwavu, nneetaaga, N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange. Ŋŋenda ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo; Nkuŋŋunta ng'enzige. Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba; N'omubiri gwange gukozze. Era nfuuse ekivume gyebali; Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe. Onnyambe, Ayi Mukama Katonda wange; Nkwegayiridde ondokole ng'okusaasira kwo bwe kuli. Balyoke bategeere ng'ogwo gwe mukono gwo, Nga ggwe, Mukama, wakikola. Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa, Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi, naye omuddu wo alisanyuka. Abalabe bange bambale okuswazibwa, Era beebikke ensonyi zaabwe ng'ekikunta. Neebazanga nnyo Mukama n'akamwa kange; Weewaawo, Nnamutenderezanga mu kibiina. Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw'omwavu, Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye. Mukama agamba mukama wange nti, “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.” Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni; Ggwe fugira wakati mu balabe bo. Abantu bo balyewaayo bokka Mu ggye lyo ng'ekiseera ky'olutalo, ku lusozi olutukuvu, Oguva mu lubuto lw'enkya. ng'omusulo bwe gujja, abavubuka bwe balikukuŋŋaanirako. Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo Alifumita bakabaka ku lunaku olw'obusungu bwe. Alisala emisango mu mawanga, Alijjuza ebifo emirambo Alifumita omutwe mu nsi ennyingi. Alinywa ku nsulo eri mu kkubo; Kyaliva ayimusa omutwe. Mutendereze Mukama. Nneebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro. Emirimu gya Mukama mikulu, Ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira. Omulimu gwe gwa kitiibwa, gwa bukulu; N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna. Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo; Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira. Awa emmere abo abamutya; Anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna. Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga. Emirimu egy'emikono gye ge mazima n'omusango; Ebiragiro bye byonna binywera. Biteekebwawo emirembe n'emirembe, Bikolebwawo mu mazima n'obutuukirivu. Yawa abantu be okununulwa; Yalagira endagaano ye emirembe gyonna; Erinnya lye ttukuvu, lya kitiibwa. Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna. Mutendereze Mukama. Alina omukisa oyo atya Mukama, Asanyukira ennyo amateeka ge. Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi; Ezzadde ly'abatuukirivu linaabanga n'omukisa. Ebintu n'obugagga biri mu nnyumba ye, N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna. Eri omutuukirivu omusana gujja awali ekizikiza, Oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu. Alaba ebirungi oyo akola eby'ekisa era awola; Akola ebintu bye mu bwenkanya. Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna; Omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo. Taatyenga mawulire mabi, Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama. Omutima gwe mugumu, taatyenga, Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be. Agabye nga bw'ayagala, awadde abaavu; Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna. Ejjembe lye lirigulumizibwa n'ekitiibwa. Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo; Aliruma obujiji naye nga talina kya kukola. Omubi by'ayagala tebimugasa. Mutendereze Mukama. Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama. Erinnya lya Mukama lyebazibwenga Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga. Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna, N'ekitiibwa kye kisinga eggulu. Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, Alina entebe ye waggulu, Eyeetoowaza okutunuulira Ebiri mu ggulu ne mu nsi? Ayimusa omwavu okuva mu nfuufu, Ajja ali mubwetaavu okuva mu ntuumo y'obusa. N'amutuuza wamu n'abalangira, Abalangira ab'abantu be. Awa omukazi omugumba amaka, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mutendereze Mukama. Isiraeri bwe yava mu Misiri, Ennyumba ya Yakobo mu bantu ab'olulimi olulala; Yuda n'abeera ekifo kye ekitukuvu; Isiraeri n'afuuka amatwale ge. Ennyanja n'eraba ekyo, n'edduka; Yoludaani ne gudda emabega. Ensozi ne zibuukabuuka ng'endiga eza sseddume, N'obusozi obutono ng'obuliga. Wali otya, ggwe ennyanja, okudduka? Naawe Yoludaani, okudda emabega? Mmwe ensozi, okubuukabuuka ng'endiga eza sseddume; Mmwe obusozi obutono, ng'obuliga? Kankana, ggwe ensi, awali Mukama, Awali Katonda wa Yakobo; Eyafuula ejjinja ekidiba eky'amazzi, Ejjinja eggumu oluzzi olw'amazzi. Si ffe, Ayi Mukama, si ffe, Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go. Lwaki amawanga googera, Nti, “ Katonda waabwe ali ludda wa?” Naye Katonda waffe ali mu ggulu; Akoze bye yayagala byonna. Ebifaananyi byabwe bya ffeeza, na zaabu, Ebikolebwa emikono gy'abantu. Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba; Birina amatu, naye tebiwulira; Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza; Birina engalo, naye tebizikwasa kintu; Birina ebigere, naye tebitambula; So ne mu bulago bwabyo temuva ddoboozi. Ababikola balibifaanana; Ababyesiga balibifaanana. Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama, Ye mubeezi wammwe, ye ngabo yammwe. Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama; Ye mubeezi wammwe, ye ngabo yammwe. Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama, Ye mubeezi wammwe, ye ngabo yammwe. Mukama atujjukidde; alituwa omukisa; Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri; Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni. Aliwa omukisa abo abatya Mukama, Abato era n'abakulu. Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza. Mmwe n'abaana bammwe. Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, Eyakola eggulu n'ensi. Eggulu lye ggulu lya Mukama; Naye ensi yagiwa abaana b'abantu. Abafu tebatendereza Mukama, Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika; Naye ffe tuneebazanga Mukama Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama. Mmwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange. Kubanga antegedde okutu, Kyenaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu. Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata; Ne ndaba ennaku n'okutegana. Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama; Nti, “Ayi Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange.” Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Katonda waffe alina okusaasira. Mukama akuuma abo abatalina nkwe; Nnajeezebwa, n'andokola. Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange; Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi. Kubanga owonyezza emmeeme okufa, Amaaso gange obutakaaba maziga, N'ebigere byange okwesittala. Nnaatambuliranga mu maaso ga Mukama Mu nsi y'abalamu. Nnakuuma okukkiriza, ne bwe n'agamba, Nti, “ Mbonyeebonye nnyo.” Ne njogera mu kusoberwa, Nti, “Abantu bonna balimba. Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebirungi bye byonna eri nze? Nditoola ekikompe eky'obulokozi, Ne nkoowoola erinnya lya Mukama. Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g'abantu be bonna. Okufa kw'abatukuvu be Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama. Ayi Mukama, ndi muddu wo; Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba. Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza, Ne nkoowoola erinnya lya Mukama. Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g'abantu be bonna; Mu mpya z'ennyumba ya Mukama, Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.” Mutendereze Mukama, mmwe amawanga gonna; Mumugulumize, mmwe abantu bonna. Kubanga okusaasira kwe kungi eri ffe, N'amazima ga Mukama gabeerera emirembe gyonna. Mutendereze Mukama. Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Isiraeri ayogere kaakano Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Abo abatya Mukama boogere kaakano Nti, “okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Bwe nnali mu nnaku ne nkoowoola Mukama; Mukama n'ampitaba, n'agimponya. Mukama ali ku luuyi lwange, sitya. Abantu bayinza kunkola ki? Mukama ali ku luuyi lwange okunnyamba; Abalabe bange nnaabatunuuliranga n'amaaso ag'obuwanguzi. Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abantu. Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abalangira. Amawanga gonna ganneetoolodde, Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza. Ganneetoolodde, ganneetoolodde buli ludda; Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza. Banneetoolodde ng'enjuki; bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa; Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza. Bannumba n'amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa; Naye Mukama n'annyamba. Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange; afuuse obulokozi bwange. Muwulire, ennyimba ez'obuwanguzi ziri mu weema ez'abatuukirivu; Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira. Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa; Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira. Sijja kufa, naye nja kuba mulamu, Era nnaabuuliranga emirimu gya Mukama. Mukama ambonerezza nnyo, Naye tampaddeyo kufa. Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu; Nnyingire, nneebaze Mukama. Olwo lwe luggi lwa Mukama; Abatuukirivu be baliyingiramu. Nkwebaza, kubanga onzizeemu, Era ofuuse obulokozi bwange. Ejjinja abazimbi lye baagaana Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda. Ekyo Mukama ye yakikola; Kya kitalo mu maaso gaffe. Luno lwe lunaku Mukama lw'akoze; Tusanyuke, tulujagulizeeko. Tulokole, tukwegayiridde, Ayi Mukama; Ayi Mukama, tukwegayiridde, otuwe obuwanguzi. Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama. Mukama ye Katonda, era atuwadde omusana; Mukumbire wamu nga mukutte amatabi, ekiweebwayo kyammwe kituukire ddala ku mayembe g'ekyoto. Ggwe oli Katonda wange, nange nnaakwebazanga; Ggwe oli Katonda wange, nnaakugulumizanga. Kale mumwebaze Mukama, kubanga mulungi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu, Abatambulira mu mateeka ga Mukama. Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwabwe gwonna. era abatasobya, Naye abatambulira mu makubo ge. Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga n'obwegendereza. Singa amakubo gange ganywedde Mu kukwata ebiragiro byo! Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna. Nnaakutenderezanga n'omutima omulungi, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga. Nnaakwatanga amateeka go; Nkwegayiridde, tondekera ddala. BEESI Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri. N'omutima gwange gwonna nkunoonya; Tonzikiriza okukyama okuva ku mateeka go. Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go. Weebazibwa, Ayi Mukama; Onjigirizenga amateeka go. N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwa ko. Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna. Nnaafumiitirizanga ebiragiro byo. Era nnaalowoozanga amakubo go. Nnaasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo. GIMERI Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo. Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go. Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira. Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna. Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira. Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga nneekuumye bye wategeeza. Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nnafumiitiriza amateeka go. DALESI Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo. Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri. Nnayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go. Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumiitiriza emirimu gyo egy'ekitalo. Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri. Onziggyeeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa. Nneerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange. Nneegatta n'ebyo bye wategeeza: Ayi Mukama, tonkwasa nsonyi. Nnaddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange. HE Onjigirize, Ayi Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange nnaalyekuumanga okutuusa enkomerero. Ompe amagezi, nange nneekuumanga amateeka go; Weewaawo, nnaagakwatanga n'omutima gwange gwonna. Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira. Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba. Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go. Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe. Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi Laba, nneegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo. VAWU Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, Ayi Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri. Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga nneesiga ekigambo kyo. So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga nnaasuubiranga emisango gyo. Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe. Era nnaatambulanga nga nneeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo. Era nnaayongeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne ssikwatibwa nsonyi. Era nnaasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga. Era nnaayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era nnaafumiitirizanga amateeka go. ZAYINI Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza. Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza. Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go. Njijukidde emisango gyo egy'edda, Ayi Mukama, Ne nneesanyusa. Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go. Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange. Nnajjukiranga erinnya lyo ekiro, Ayi Mukama, Era nnakwatanga amateeka go. Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo. KEESI Mukama gwe mugabo gwange: N'ayogera nga nnaakwatanga ebigambo byo. N'asaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri. Nnalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza. N'ayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira. Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye sseerabidde mateeka go. Mu ttumbi nnaagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga. Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo. Ayi Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go. TEESI Okoledde ebirungi omuddu wo, Ayi Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nnakkirizanga ebyo bye walagira. Nga ssinnabonyaabonyezebwa, nnakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo. Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go. Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna nneekuumanga ebiragiro byo. Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go. Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go. Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi. YODI Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira. Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga nnaasuubiranga ekigambo kyo. Mmanyi, Ayi Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa. Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo. Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa. Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye nnaafumiitirizanga ebiragiro byo. Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza. Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi. KAFU Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo. Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi? Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye sseerabira mateeka go. Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya? Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go. Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe. Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo. Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza. LAMEDI Emirembe gyonna, Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu. Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo. Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo. Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nnandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa. Sseerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo. Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga nnaanoonyanga ebiragiro byo. Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze nnaalowoozanga bye wategeeza. Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo. MEMU Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde. Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna. Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza. Ntegeera okukira abakadde, Kubanga nneekuumanga ebiragiro byo. Nnaaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo. Seekooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga. Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange! Ebiragiro byo bye bindetera okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba. NUUNI Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange. Nnalayira, era nkikakasizza kino, Nga nnaakwatanga emisango gyo egy'ensonga. Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, Ayi Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, Ayi Mukama, nga tekaawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo. Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye sseerabira mateeka go. Ababi bantegedde omutego; Naye ssikyamanga kuleka biragiro byo. Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggwaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange. Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero. SAMEKI Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala. Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo. Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke nneekuumenga Katonda wange bye yalagira. Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange. Ggwe ompanirire, nange nnaabeerangawo mirembe, Era nneegenderezanga amateeka go ennaku zonna. Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba. Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza. Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo. AYINI Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukirivu: Tondekera abo abanjooga. Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjooganga. Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu. Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go. Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza. Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibizza amateeka go. Kyenvudde njagala ebyo bye walagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi. Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba. PE Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma. Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi. Nnayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma; Kubanga nnayaayaanira ebyo bye walagira. Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo. Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga. Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ebiragiro byo. Oyaakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go. Amaaso gange gakulukuta emigga gy'amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go. TIZADDE Oli mutuukirivu, Ayi Mukama, N'emisango gyo gya nsonga. Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala. Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo. Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala. Nze ndi muto, nnyoomebwa: Naye sseerabira biragiro byo. Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima. Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa. Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange nnaabeeranga mulamu. KOOFU Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, Ayi Mukama: Nnaakuumanga amateeka go. Nkukoowodde; ondokole, Nange nnaakwatanga ebyo bye wategeeza. Nnakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nnasuubira ebigambo byo. Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo. Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, Ayi Mukama, ng'emisango gyo bwe giri: Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go. Ggwe oli kumpi, Ayi Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima. Edda n'edda nnamanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna. REESI Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go. Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri. Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go. Okusaasira kwo okulungi kungi, Ayi Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri. Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye sseekooloobyanga kuleka bye wategeeza. Nnalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo. Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, Ayi Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri. Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna. SINI Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo. Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi. Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala. Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga. Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza. Nsuubidde obulokozi bwo, Ayi Mukama, Era nkoze bye walagira. Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo. Nnaakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go. TAWU Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, Ayi Mukama: Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri. Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri. Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go. Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu. Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo. Njaayaanidde obulokozi bwo, Ayi Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa. Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga, Nnakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga sseerabira bye walagira. Mu kunakuwala kwange, nkoowoola Mukama, Nange anziremu. Mponya, Ayi Mukama, eri emimwa egy'obulimba, N'eri olulimi olw'obukuusa. Oliweebwa ki, kiki ekinakukolebwako nate, Ggwe olulimi olw'obukuusa? Obusaale obw'obwogi obw'abazira, Era n'amanda ag'entaseesa. Zinsanze, kubanga ntambulira mu Meseki Kubanga ntuula mu weema za Kedali! Mbadde ennaku nnyingi Awamu n'abantu abakyawa emirembe. Nze njagala emirembe; Naye bwe njogera, baagala lutalo. Nnaayimusa amaaso gange eri ensozi; Okubeerwa kwange kuliva wa? Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n'ensi. Taliganya kigere kyo okusagaasagana; Akukuuma taabongootenga. Laba, oyo akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga. Mukama ye mukuumi wo; Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo. Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro. Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo. Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna. N'asanyuka bwe baŋŋamba Nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama.” Ebigere byaffe biyimiridde Munda mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi; Ggwe Yerusaalemi, eyazimbibwa Okuba ekibuga ekigattiddwa awamu. Ebika gye birinnya, bye bika bya Mukama, Okuba obujulirwa eri Isiraeri, Okwebazanga erinnya lya Mukama. Kubanga baateeka omwo entebe ez'okusalirako omusango, Entebe ez'ennyumba ya Dawudi. Musabirenga Yerusaalemi emirembe; Baliraba omukisa abakwagala. Emirembe gibeere mu bisenge byo, N'omukisa mu mayu go. Ku lwa baganda bange ne bannange Nnaayogera kaakano nti, “Emirembe gibeere mu ggwe.” Olw'ennyumba ya Mukama Katonda waffe Nnaanoonyanga obulungi bwo. Eri ggwe nnyimusa amaaso gange, Ayi ggwe atuula mu ggulu. Laba, amaaso g'abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe, Amaaso g'omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, N'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, Okutuusa lw'alitusaasira. Otusaasire, Ayi Mukama, otusaasire: Kubanga tunyoomebwa nnyo ddala. Emmeeme yaffe ejjudde nnyo ennaku, Olw'okuduulirwa abo abalina emirembe, N'okunyoomebwa abo ab'amalala. Singa Mukama si ye yali ku ludda lwaffe, Isiraeri ayogere kaakano; Singa Mukama si ye yali ku ludda lwaffe, Abantu bwe baatugolokokerako, Banditumize, nga tukyali balamu, Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako; Amazzi ganditutwalidde ddala, Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe; Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe. Mukama yeebazibwe, Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe. Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi; Omutego gukutuse, naffe tuwonye. Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, Eyakola eggulu n'ensi. Abeesiga Mukama baliŋŋaanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna. Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, Ne Mukama bw'atyo bwe yeetooloola abantu be, Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna. Kubanga ababi tebalifuga, mu nsi ya batuukirivu; Abatuukirivu balemenga okugolola emikono gyabwe okukola ebitasaana. Obakolenga ebirungi, Ayi Mukama, abalungi, N'abo abalina emitima egitali gya bukuusa. Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibafulumya wamu n'abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibeere mu Isiraeri. Mukama bwe yaggyawo obusibe bwa Sayuuni, Ne tufaanana ng'abo abaloota. Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko, N'olulimi lwaffe ne luyimba olw'essanyu, Ne balyoka boogerera mu mawanga Nti, “ Mukama abakoledde ebikulu.” Mukama atukoledde ebikulu; Kyetuvudde tusanyuka. Okomyewo nate emikisa gyaffe, Ayi Mukama, Ng'emigga egikulukutira mu bukiikaddyo. Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka. Newakubadde nga yagenda ng'akaaba, ng'atwala ensigo; Alidda nate n'essanyu, ng'aleeta ebinywa bye. Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere. Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere. Muteganira bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka, Era bwe mulya emmere ey'okutegana, Kubanga abaagalwa be abawa otulo. Laba, abaana bwe busika bwa Mukama; N'ebibala eby'olubuto ye mpeera ye. Ng'obusaale bwe bubeera mu mukono gw'omuzira, Abaana ab'omu buvubuka bwe bali bwe batyo. Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo; Tebaakwatibwenga nsonyi, Bwe banaayogereranga n'abalabe baabwe mu mulyango. Alina omukisa buli atya Mukama, Atambulira mu makubo ge. Kubanga onoolyanga ebibala ebiva mu kukola kwo, Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi. Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala ennyo mu nnyumba yo; Abaana bo nga balinga ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo. Laba, bw'atyo bw'aliweebwa omukisa omuntu Atya Mukama. Mukama anaakuwanga omukisa ng'ayima mu Sayuuni; Naawe onoolabanga ebirungi nga bijja ku Yerusaalemi ennaku zonna ez'obulamu bwo. Owangaale olabe abaana b'abaana bo. Emirembe gibeere ku Isiraeri. Emirundi mingi gye bambonyabonyezza okuva mu buvubuka bwange Isiraeri ayogere kaakano; Emirundi mingi gye baakambonyabonyezza okuva mu buvubuka, Naye tebaampangudde. Bakubye omugongo gwange ne babanga abakabala ennimiro, Gujjudde enkovu. Mukama mutuukirivu; Asazeesaze emigwa egy'ababi. Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe emabega, Bonna abakyawa Sayuuni. Babe ng'omuddo ogumera waggulu ku nnyumba, Oguwotoka nga tegunnakula. Omukunguzi tayinza gujjuza mu lubatu lwe, Newakubadde asiba oguwezaamu ekinywa. wadde abayitawo baleme kwogera Nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe! Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama!” Ayi Mukama nkukaabira nga nsobeddwa; Mukama, owulire eddoboozi lyange; Otege amatu go eri Eddoboozi ery'okwegayirira kwange. Mukama, bw'onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ayi Mukama, aliyimirira aluwa? Naye waliwo okusonyiwa gy'oli, Olyoke otiibwenga. Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira, Era ekigambo kye lye ssuubi lyange. Emmeeme yange erindirira Mukama, Okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya; Ddala okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya. Ggwe Isiraeri, suubiriranga mu Mukama; Kubanga awali Mukama we wali okwagala okwolubeerera, Era awali ye we wali okununula okungi. Era oyo alinunula Isiraeri Mu butali butuukirivu bwe bwonna. Ayi Mukama, omutima gwange si gwa malala, newakubadde amaaso gange tegeegulumiza; So ssitambulira mu bigambo ebikulu. Newakubadde mu bigambo eby'ekitalo ebinnema. Mazima ŋŋonzezza emmeeme yange, ngisirisizza; Ng'omwana avudde ku mabeere awali nnyina, N'emmeeme yange eri we ndi bw'etyo ng'omwana avudde ku mabeere. Ggwe Isiraeri suubiriranga mu Mukama Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna. Jjukira Ayi Mukama, Dawudi, Okubonaabona kwe kwonna kweyagumiikiriza. Bwe yalayirira Mukama, Ne yeeyama Omuzira wa Yakobo; Ssiriyingira mu nnyumba yange, wadde okugenda mu kitanda kyange; Ssirikkiriza tulo kunkwata, Newakubadde okuzibiriza amaaso gange, Okutuusa lwe ndimulabira Mukama ekifo, Eweema ey'Omuzira wa Yakobo. Laba, twagiwulirako mu Efulasa; Twagiraba mu nnimiro ey'ekibira. Tuliyingira mu weema ze; Tulisinziza awali entebe y'ebigere bye. Golokoka, Ayi Mukama, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu; Ggwe, n'essanduuko ey'amaanyi go. Bakabona bo bambale obutuukirivu; N'abatukuvu bo boogerere waggulu olw'essanyu. Ku lw'omuddu wo Dawudi Togoba maaso g'oyo gwe wafukako amafuta. Mukama yalayirira Dawudi mu mazima; Talikyuka kugaleka, Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo. Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga, Era n'abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna. Kubanga Mukama yeeroboza Sayuuni; Yasiima okukituulamu. Kino kye kifo kye mpummuliramu ennaku zonna, Wano we nnaatuulanga; kubanga nsiimyewo. Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n'ebirungi byakyo; Nnakkusanga abaavu baakyo emmere. Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi; N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu. Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza, Nnamuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta. Abalabe be ndibambaza ensonyi; Naye ku mutwe gwe engule ey'ekitiibwa ekingi. Laba bwe kiri ekirungi, bwe kisanyusa, Ab'oluganda okubeera awamu nga batabaganye! Kiri ng'amafuta ag'omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe, Agaakulukutira mu kirevu, Mu kirevu kya Alooni; Agakulukutira ku lukugiro lw'ebyambalo bye; Kiri ng'omusulo gw'okulusozi Kerumooni, Ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; Kubanga eyo Mukama gy'agabira omukisa, n'obulamu obw'emirembe n'emirembe. Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, Abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama. Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu, awatukuvu, Mutendereze Mukama. Mukama akuwe omukisa ng'ayima mu Sayuuni; Oyo eyakola eggulu n'ensi. Mutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama; Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama; Mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama, Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe. Mutendereze Mukama; kubanga Mukama mulungi; Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu. Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe, Ne Isiraeri okuba eky'omuwendo gy'ali. Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu, Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna. Buli ky'ayagadde Mukama akikoze, Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna. Alagira ebire ne byekulumulula okuva ku nkomerero y'ensi; Atonnyesa enkuba erimu okumyansa; Asumuluula empewo mu mawanika ge. Ye yakuba ababereberye ab'e Misiri, Ab'abantu era n'ab'ensolo. Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri, Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna. Eyakuba amawanga amangi, N'atta bakabaka ab'amaanyi; Sikoni kabaka w'Abamoli, Ne Ogi kabaka w'e Basani, N'amatwale gonna aga Kanani: N'agaba ensi yaabwe okuba obusika, Obusika eri Isiraeri abantu be. Erinnya lyo, Ayi Mukama, lya lubeerera ennaku zonna; Limanyibwa, Ayi Mukama, okutuusa emirembe gyonna. Kubanga Mukama aliggyako abantu be omusango, Era alisaasira abaweereza be, Ebifaananyi eby'amawanga ebya ffeeza, ne zaabu, Bikolebwa n'amikono gy'abantu. Birina emimwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba; Birina amatu, naye tebiwulira; Ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka. Ababikola balibifaanana; na buli abyesiga alibifaanana. Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mutendereze Mukama; Mmwe ennyumba ya Alooni, mutendereze Mukama; Mmwe ennyumba ya Leevi, mutendereze Mukama; Mmwe abatya Mukama, mutendereze Mukama. Mukama ali mu Sayuuni atenderezebwe, Atenderezebwe oyo abeera mu Yerusaalemi. Mutendereze Mukama. Mumwebaze Mukama, kubanga mulungi: Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Mumwebaze Katonda wa bakatonda; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Mumwebaze Mukama w'abaami; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo akola eby'amagero ebikulu yekka; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyakola eggulu n'amagezi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyakola ebyaka ebikulu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Enjuba okufuga emisana; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Omwezi n'emmunyeenye okufuga ekiro; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. N'aggyamu Isiraeri wakati mu bo; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Yabaggyamu n'omukono gwe ogw'amaanyi gwe yagolola, Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. N'ayisa Isiraeri wakati mu yo; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Naye n'asaanyaawo Falaawo n'eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Oyo eyakuba bakabaka ab'amaanyi; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. N'atta bakabaka abaatiikirivu; Kubanga okuwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Sikoni kabaka w'Abamoli; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Ne Ogi kabaka w'e Basani; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. N'agaba ensi yaabwe okuba obusika; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Eyatujjukira bwe twajeera; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna: N'atuwonya eri abalabe baffe; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Awa eby'okulya ebirina emibiri byonna; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Mumwebaze Katonda ow'omu ggulu; Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. Okumpi n'emigga egy'e Babbulooni, Twatuulawo wansi, ne tukaaba amaziga, Bwe twajjukira Sayuuni. Ku miti egyali awo Ne tuwanikako ennanga zaffe. Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagira okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti, “Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.” Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama Mu nsi eteri yaffe? Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, Omukono gwange ogwa ddyo gukalambale! Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange lyonna. Jjukira, Ayi Mukama, abaana ba Edomu Ku lunaku Yerusaalemi bwe kyasuulibwa; Abaayogera nti, “ Kisuule, kisuule, n'emisingi gyakyo!” Ggwe omuwala ow'e Babbulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe. Aliba n'omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka Ku jjinja. Nneebazanga n'omutima gwange gwonna; Mu maaso ga bakatonda nnaayimbanga okukutendereza. Nnaasinzizanga eri Yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go; Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna. Ku lunaku lwe nnakukoowoolerako wampitaba, N'oŋŋumya mu mmeeme yange. Bakabaka bonna ab'ensi baanaakutenderezanga Ayi Mukama, Kubanga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko. Baanaayimbanga ku makubo ga Mukama; Kubanga ekitiibwa kya Mukama kingi. Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye afaayo eri abo abeetoowaza; Naye ab'amalala ababeera wala. Newakubadde nga nneetooloddwa ebizibu, naye gwe okuuma obulamu bwange, Ogolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo ondokola. Mukama alituukiriza ebyo by'anteekeddeteekedde; Okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe. Ayi Mukama, wannoonya nze, wammanya. Omanyi bwe ntuula, era ne bwe ngolokoka, Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala. Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange, Era omanyi amagenda gange gonna. Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, Laba, Ayi Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala. Onzingizizza mu maaso n'emabega, Era ontaddeko omukono gwo. Okumanya okuliŋŋaanga okwo kwa kitalo, kunnema; Kwa waggulu, siyinza kukutuukako. N'agenda wa okuva eri omwoyo gwo? Oba naddukira wa amaaso go? Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli; Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli. Bwe nneebagala ebiwaawaatiro eby'enkya, Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo; Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata. Bwe ndyogera nti, “ Ekizikiza kimbuutikire, N'omusana ogunneetoolodde gufuuke ekiro;” Naye era enzikiza gy'oli teba kizikiza, Naye ekiro kyakaayakana ng'emisana; Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli. Kubanga ggwe olina omwoyo gwange; Wammumbira mu lubuto lwa mmange. Nkutendereza, kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo; Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala. Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi. Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyabumbibwanga buli lunaku buli lunaku, Bwe byali nga tebinnabaawo n'ekimu. Era n'ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, Ayi Katonda! Bwe bigattibwa awamu, nga bingi! Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu obungi; Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe. Tolirema kutta babi, Ayi Katonda; Kale muve gye ndi, mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi. Kubanga bakwogerako bubi, N'abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo. Ssibakyawa abo, Ayi Mukama, abakukyawa ggwe? Ssinyiigira abo abakugolokokerako? Mbakyawa okukyawa okutuukiridde Mbayita balabe bange. Onkebere, Ayi Katonda, omanye omutima gwange; Onkeme, omanye ebirowoozo byange; Olabe ng'ekkubo lyonna ery'obubi liri mu nze, Era onkulembere mu kkubo eritakoma. Omponye, Ayi Mukama, eri omubi; Onkuume eri abantu abakambwe; Abategeka okukola eby'ettima mu mutima gwabwe; abanoonya entalo buli kiseera. Basongodde olulimi lwabwe ng'omusota; Ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng'obw'essalambwa. Onkuume, Ayi Mukama, eri emikono gy'ababi; Omponye abantu abakambwe; Abateesezza okunkyamya. Ab'amalala banteze omutego; Banjuluza ekitimba kyabwe; Batega emitego mu kkubo lyange. N'agamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.” Wulira okwegayirira kwange, Ayi Mukama. Ayi Mukama, Mukama wange, omulokozi wange ow'amaanyi; Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw'olutalo. Tokkiriza, Ayi Mukama, omubi by'ayagala; Tokkiriza nteeketeeka za mubi kutuukirira; baleme okwegulumizanga. Abanneetooloodde baleke, Eby'ettima bye boogera bibatuukeko. Amanda agookya gabagweko; Basuulibwe mu muliro; Mu bunnya obuwanvu, baleme okugolokokanga nate. Ayogera obubi taanywerenga mu nsi; Obubi bunaayigganyanga omuntu omukambwe. Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonyaabonyezebwa, ayamba abeetaaga okuyisibwa mu bwenkanya. Abatuukirivu tebalirema kwebaza linnya lyo; Ab'amazima balituula w'oli. Mukama, nkukoowoola, yanguwa okujja gye ndi! Ompulire nga nkukoowoola. Okusaba kwange kubeere ng'obubaani mu maaso go; N'okugolola emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi. Kuuma akamwa kange, Ayi Mukama, Onkomeko bwe njogera. Tolekanga mutima gwange kukola kibi kyonna. Okwemalira mu bikolwa ebibi, Awamu n'abo abakola ebitali bya butuukirivu; era nneme okulya ku mmere yaabwe empoomerevu. Leka omutuukirivu ankube, oba annenye mu kisa, Era tokkiriza amafuta go mubi okufukibwa ku mutwe gwange; Kuba okusaba kwange tekukiriziganya na bikolwa byabwe ebibi. Ababi bwe baliweebwayo eri ab'okubasalira omusango, Ne balyoka bayiga nti, “Ekigambo kya Mukama kya mazima.” Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaabwe galisaasaanyizibwa ku mulyango gw'emagombe. Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, Ayi Mukama Katonda; Nneesiga gwe, tondeka nga ssirina annyamba. Onkuume eri omutego gwe banteze. N'eri ebyambika by'abo abakola ebitali bya butuukirivu. Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo, Naye nze mpone. Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange; N'eddoboozi lyange nneegayirira Mukama. Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza; Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza; Omwoyo gwange bwe gunakuwala, ggwe omanyi ekkubo lyange. Bakwese omutego mu kkubo lye ntambuliramu. Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anaambeera; Ekiddukiro kimbuze; tewali n'omu anfaako. Nnakukoowoola ggwe, Ayi Mukama; N'ayogera nti, “Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu. Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo, Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi. Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, nneebazenga erinnya lyo; Abatuukirivu balinneetooloola; Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi.” Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange. Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo. So tosalanga musango gwa muddu wo; Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga. Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi. Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda. Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange; Omutima gwange gwennyise. Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna, Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo. Ngolola emikono gyange eri ggwe; Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta, ng'ettaka ekkalu. Yanguwa okumpitaba, Ayi Mukama; omwoyo gwange guggwaamu amaanyi; Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakka mu bunnya. Leka mpulirenga ku nkya ku kwagala kwo; kubanga ggwe nneesiga. Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe. Omponye, Ayi Mukama, eri abalabe bange; Nziruka okujja gy'oli onkuume. Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange, Omwoyo gwo mulungi ankulembere; onnuŋŋamize mu kkubo ery'obutuukirivu. Olw'erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume; Mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi. Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange, Ozikirize abalabe bange bonna. Kubanga ndi muddu wo. Yeebazibwe Mukama olwazi lwange, Atendeka emikono gyange okulwana, n'engalo zange olutalo. olwazi lwange, era ekigo kyange, Amaanyi gange era omulokozi wange, Engabo yange mwe nneekweka. Akkakkanya abantu wansi we. Mukama, omuntu kye ki, ggwe okumumanya? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumulowoozaako? Omuntu ali nga omukka. Ennaku ze ziriŋŋaanga ekisiikirize ekiyita obuyisi. Okutamye eggulu lyo, Ayi Mukama, okke! Kwata ku nsozi zinyooke omukka Myansa abalabe basaasaane, Olase obusaale bwo, obateganye. Ogolole omukono gwo ng'oyima waggulu; Omponye, onziggye mu mazzi amangi, mu mukono gwa bannamawanga; Aboogera eby'obulimba, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba. Nnaakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, Ayi Katonda; N'ennanga erina enkoba ekkumi nnaayimbanga okukutendereza. Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi; Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma. Omponye, onziggye mu mukono gwa bannamawanga, Aboogera eby'obulimba, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba. Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, babeere ng'emiti egikulidde ddala; N'abawala baffe ng'empagi ez'omu nsonda ezibajjibwa okuzimba olubiri lwa kabaka. Amawanika gaffe gajjule, nga galina ebintu eby'engeri zonna; N'endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n'obukumi ku ttale lyaffe; Ente zaffe ziwake bulungi, Nga tewali evaamu gwako, oba eremererwa okuzaala. Waleme kubaawo kukaaba n'okwaziirana kwonna mu nguudo zaffe; Abantu abaweereddwa emikisa eggyo beesiimye, Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe nga ye Mukama. Nnaakugulumizanga, Katonda wange, era Kabaka wange, Era nnaatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe. Buli lunaku nnaakutenderezanga, Era nnaatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe. Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo, N'obukulu bwe tebunoonyezeka. Ab'omulembe ogumu bannaatenderanga oguddako ebikolwa byo, bannaatendanga emirimu gyo egy'amaanyi. Ku bukulu obw'ekitiibwa obw'ettendo lyo, Ne ku mirimu gyo egy'ekitalo, kwe nnaalowoozanga. Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby'entiisa eby'amaanyi; Nange nnaategeezanga obukulu bwo. Banaayogeranga ku bulungi bwo obungi obwatikirivu, Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo. Mukama wa kisa ajjudde okusaasira; Alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala okutaggwaawo. Mukama mulungi eri bonna; N'okusaasira kwe okulungi kubuna byonna bye yatonda. Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, Ayi Mukama; N'abatukuvu bo banaakutenderezanga. Banaayogeranga ku kitiibwa eky'obwakabaka bwo, Banaantegezanga amaanyi go. Okumanyisanga abaana b'abantu ebikolwa bye eby'amaanyi, N'ekitiibwa eky'obukulu obw'obwakabaka bwe. Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, N'okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna. Mukama awanirira abagwa bonna, Era ayimiriza abakutama bonna. Amaaso g'ebintu byonna gakulindirira; Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo. Oyanjuluza engalo zo, N'okkusa buli kintu kiramu bye kyagala. Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna, Era wa kisa mu mirimu gye gyonna. Mukama aba kumpi abo bonna abamukoowoola, Bonna abamukoowoola mu mazima. Abaamutya abawa bye baagala, Era anaawuliranga okukaaba kwabwe, n'abalokola. Mukama akuuma abo bonna abamwagala; Naye ababi bonna alibazikiriza. Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama; Era ne byonna ebirina emibiri bye bazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n'emirembe. Mutendereze Mukama. Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange. Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange; Nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu. Temwesiganga balangira Newakubadde omwana w'omuntu, omutali buyambi bwonna. Omukka gwe gumuvaamu, n'adda mu ttaka lye; Ku lunaku olwo enteekateekaze zonna zifa. Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we, Ng'essuubi lye liri mu Mukama Katonda we; Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna; Omwesigwa emirembe gyonna, Asalira omusango abajoogebwa mu mazima; Awa emmere abalumwa enjala; Mukama asumulula abasibe; Mukama azibula amaaso g'abazibe; Mukama awanirira abazitoowereddwa; Mukama ayagala abatuukirivu; Mukama akuuma bannamawanga; Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu; Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala. Mukama anaafuganga ennaku zonna, Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama. Mutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga ajjudde ekisa, n'oluyimba olumutendereza lumusaanira. Mukama azimbira ddala Yerusaalemi; Akuŋŋaanya wamu abawaŋŋangusibwa aba Isiraeri. Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe. Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo. Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi; Okutegeera kwe tekulowoozekeka. Mukama awanirira abawombeefu; Asuula wansi ababi. Muyimbire Mukama n'okwebaza; Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe; Abikka ku ggulu n'ebire, Ateekerateekera ensi enkuba, Amereza omuddo ku nsozi. Awa ensolo emmere yaazo, Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba. essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi; wadde mu magulu g'omuntu. Mukama asanyukira abo abamutya, Abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo. Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi; Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni. Kubanga anyweza ebisiba by'enzigi zo; Awadde omukisa abaana bo munda yo. Aleeta emirembe mu nsalo zo; Akukkusa eŋŋaano esinga obulungi. Aweereza ekiragiro kye ku nsi; Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi. Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Omusulo ogukutte agusaasaanya ng'evvu. Omuzira agukanyuga ng'obuyinjayinja; Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze? Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa; Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta. Alaga Yakobo ekigambo kye, Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri. Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna; N'emisango gye tebagimanyanga. Mutendereze Mukama. Mutendereze Mukama; Mutendereze Mukama, nga musinziira mu ggulu; Mumutendereze mu bifo ebya waggulu. Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna; Mumutendereze, mmwe eggye lye lyonna. Mumutendereze, mmwe enjuba n'omwezi; Mumutendereze, mmwe emmunyeenye zonna ezaaka. Mumutendereze, mmwe eggulu eriri waggulu ennyo, Nammwe amazzi agali waggulu w'eggulu. Bitendereze erinnya lya Mukama; Kubanga yalagira, ne bitondebwa. Era yabinyweza okutuusa emirembe n'emirembe; Yateeka etteeka eritalidiba. Mutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi, Mmwe balukwata, n'ebifo byonna eby'obuziba; Omuliro n'omuzira, serugi n'omukka; Omuyaga ogutuukiriza ekigambo kye; Ensozi n'obusozi bwonna; Emiti egibala n'emivule gyonna; Ensolo n'ente zonna; Ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka; Bakabaka b'ensi n'amawanga gonna; Abalangira n'abalamuzi bonna ab'ensi; Abavubuka n'abawala; Abakadde n'abato. Batendereze erinnya lya Mukama; Kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa. Ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu. Era agulumizizza ejjembe ery'abantu be, Ettendo ery'abatukuvu be bonna; Be baana ba Isiraeri, abantu abamuli okumpi. Mutendereze Mukama. Mutendereze Mukama. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, N'ettendo lye mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu. Isiraeri asanyukire oyo eyamukola: Abaana ba Sayuuni bajagulize kabaka waabwe. Batendereze erinnya lye nga bazina; Bamutendereza nga bwe bakuba ebitaasa n'ennanga. Kubanga Mukama asanyukira abantu be; Abawombeefu abawa obuwanguzi; Abatukuvu bajagulize ekitiibwa; Bayimbirenga olw'essanyu ku bitanda byabwe. Batendereze nnyo Katonda bwabwe, bakwate ekitala eky'obwogi obubiri mu ngalo zaabwe; Okuwoolera eggwanga ku mawanga, N'okubonyaabonya abantu; Okusiba bakabaka baabwe n'enjegere, N'abakungu baabwe n'ebisiba eby'ebyuma; Babasalire omusango ogwabawandiikirwa; Abatukuvu be bonna balina ekitiibwa ekyo. Mutendereze Mukama. Mutendereze Mukama. Mutendereze Katonda mu watukuvu we; Mutendereze amaanyi ge mu bbanga. Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi, Mumutendereze ng'obukulu bwe obulungi bwe buli. Mumutendereze n'eddoboozi ery'ekkondeere; Mumutendereze n'amadinda n'ennanga. Mumutendereze n'ekitaasa n'okuzina; Mumutendereze n'ebyo ebirina engoye n'endere. Mumutendereze n'ebitaasa ebivuga ennyo; Mumutendereze n'ebitaasa eby'eddoboozi ettono. Buli ekirina omukka kitendereze Mukama. Mutendereze Mukama. Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri: Ziyamba abantu okufuna amagezi n'okuyigirizibwanga; Okutegeera amakulu g'ebigambo ebikusike. Ziyigiriza amagezi ag'okukolanga eby'amagezi, Eby'obutuukirivu, eby'amazima ne by'obwenkanya. Ziyigiriza abatalina magezi obukabakaba, Ziwa abavubuka okumanya n'okutegeera. Ow'amagezi bw'aziwulira yeeyongerenga okuyiga, Era omusajja ategeera ayige okukolanga ebituufu. Okutegeeranga engero n'ebigambo ebigumu. Ebigambo eby'abagezigezi n'ebikokko byabwe. Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera: Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga. Mwana wange, wuliranga okuyigiriza kwa kitaawo, So tova mw'ebyo nnyoko bya kugamba. Kubanga binaakuyambanga okulungiya empisa zo, Ng'eky'okumutwe n'emikuufu gy'omu bulago, bwe biwoomera ababyambala. Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasendanga, Tokkirizanga. Singa bagamba nti, “Jjangu tugende fenna, Tuteege omuntu, Tuzinde mu kyama ataliiko musango, tumulumbe awatali nsonga, Tubafuukire amagombe, tubamire nga bakyali balamu, Basaanewo nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya; Tuliraba ebintu byonna eby'omuwendo ennyo, Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago. Jjangu otwegatteko naawe, Tunnagabaniranga wamu omunyago.” Mwana wange, tokirizanga kugenda nabo, Era tobeesemberezanga, Kubanga bagenderera okukola obubi, Era tebalwawo kuyiwa musaayi. Otegera bwereere ekitimba, Ennyonyi gy'otega nga ekulaba. Naye abantu ng'abo, bateega bulamu bwabwe bo, Bafiira mu mitego gyabwe bo. Bwe batyo bwe babeera abafuna ebintu nga banyaga: Baba besse bokka. Amagezi googerera waggulu mu luguudo; Gakoowoolera mu bifo ebigazi; Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu; Awayingirirwa mu kibuga, Wegoogerera ebigambo byago: “Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi? N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma, N'abasirusiru okukyawanga okumanya? Mukyuke olw'okunenya kwange: Nnaabamanyisa ekindi ku mwoyo, Nnaabamanyisa ebigambo byange. Kubanga mbayise ne mugaana okuwulira, Ngolodde omukono gwange, so tewali muntu assizzaayo mwoyo; Temufuddeyo ku kubuulirira kwange kwonna, So temwagadde mbanenye n'akatono: Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku; Ndikudaala entiisa yammwe bwerituuka. Entiisa bw'eribajjira ng'omuyaga, Akabi ne kabeetooloola ng'embuyaga ey'akazimu, Okweraliikirira n'obubalagaze bwe biribajjira. Kale bwe balimpanjagira, nange siribaddamu. Balinnoonya nnyo, naye tebalindaba: Kubanga baakyawanga okumanya, Era tebalondawo kutya Mukama. Tebaayagalanga kubuulirira kwange n'akatono, Baanyoomanga okunenya kwange kwonna. Kyebaliva balya ku bibala eby'ekkubo lyabwe bo, Ne bakkuta enkwe zaabwe bo. Kubanga okudda ennyuma okw'abatalina magezi kulibatta, Obutafaayo bw'abasiru bulibazikiriza. Naye buli anaawuliranga bye ŋŋamba anaabeeranga mirembe, Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.” Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange, N'ewekuumanga ebiragiro byange, N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi N'ossaayo omutima gwo okutegeera; Bw'onookabiranga okufuna okumanya, Era nooyaayaaniranga okufuna okutegeera, N'onoonya amagezi nga ffeeza, N'ogawenja ng'eby'obugagga ebyakwekebwa, Olwo lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda. Kubanga Mukama y'agaba amagezi, Ebigambo bye, bye bituwa okumanya n'okutegeera. Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu, Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona; Alyoke akuume obwenkanya, Era alabirire okutambula kw'abatukuvu be. Kale bw'olissa omwoyo ku bye nkugamba, lw'olitegeera obutuukirivu n'obwenkanya, N'ebituufu, na buli kkubo eddungi. Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo. Okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga. Okukuwonyanga mu kkubo ebbi, Eri abantu aboogera ebikyamya. Abaleka amakubo ag'obugolokofu, Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza. Abasanyuka okukola obubi, Era abawoomerwa ebibi. Amakubo gaabwe makyamukyamu, N'engeri zaabwe za kwonoona. Oliwonyezebwa eri omukazi ow'empisa embi, Agezaako okukusendasenda ne bigambo bye ebiwoomerevu. Aleka bba gweyafumbirwa mu buvubuka, Ne yeerabira endagaano ya Katonda we. Kale okugenda mu nnyumba ye, kuba kugenda mu kufa, Ekkubo erigenda ewuwe, likutwala magombe. Abagenda gyali tebadda, Tebakomawo mu kkubo ery'obulamu. Gobereranga ekkubo ery'abasajja abalungi, Otambulirenga mu kkubo ery'abatuukirivu. Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, N'abo abatuukirira balisigala omwo. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala. Mwana wange, teweerabiranga bye nkuyigiriza, Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange. Kubanga oliwangaala emyaka mingi, N'obeeranga mu bulamu obw'emirembe. Tosulanga bwesigwa n'amazima. Bisibenga mu bulago bwo, Biwandiikenga munda mu mutima gwo. Bw'otyo bw'onoofunanga okuganja n'okusiimibwa, Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu. Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe. Mwatulenga mu makubo go gonna, Naye anaaluŋŋamyanga olugendo lwo. Teweefuulanga mugezi mu maaso go ggwe, Tyanga Mukama, era ovenga mu bubi. Ekyo kye kinaabanga eddagala eriwonya ebiwundu byo, Era erikkakkanya okuluma kw'amagumba go. Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna. Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu. Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama, So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya. Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala. Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera. Kubanga ga muwendo okusinga ffeeza N'amagoba gaago gasinga zaabu ennungi. Ga muwendo mungi okusinga amayinja ag'omuwendo. Era tewali kintu ky'oyinza okwegomba okugeraageranya nago. Amagezi gakuwangaaza, ne gakuwa obugagga n'ekitiibwa. Amagezi gakuwa obulamu obweyagaza, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe. Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago. Mukama mu magezi mwe yatondera ensi, mu kutegeera mwe yassizzaawo eggulu. Mu kumanya kwe amazzi gafubutuka okuva wansi, Ne bire ne bitonya enkuba. Mwana wange, weekwatenga amagezi amatuufu, N'okusalawo okulungi, Ebyo birikuwa obulamu, N'ebirongoosa embeera zo. Olwo olitambula mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala. Bw'onoogalamiranga okwebaka tootyenga, Oneebakanga otulo ne tukuwoomera. Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Wadde okuzikirira kw'ababi bwe kujjanga. Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa. Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kibanga mu buyinza bwo okukikola. Togambanga muliraanwa wo nti, “ Genda okomewo, Nakuwa enkya,” Bw'obanga eky'okumuwa okirina. Totegekanga kukola munno kabi, Ng'ali naawe mirembe. Toyombanga na muntu awatali nsonga, Nga taliiko kabi k'akukoze. Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, Era tosalangawo kukola nga ye by'akola, Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye abalongoofu abamanyisa ekyama kye. Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera. Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaze ekisa. Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye abasiru balifuna okuswazibwa. Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe, Musseeyo omwoyo, mulyoke mufune okutegeera: Kubanga bye mbayigiriza birungi. Temuvanga mw'ebyo bye mbayigiriza. Bwe nali nkyali mulenzi muto, Nali muganzi ewa kitange ne mmange. Era kitange yanjigirizanga n'aŋŋamba nti: “Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange; Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu: Funa amagezi, funa okutegeera; Togeerabiranga so tovanga mu bigambo bye nkugamba. Amagezi togalekanga, nago ganaakukuumanga; Ogaagalanga nago ganaakulabiriranga. Amagezi kye kintu ekisinga obukulu. kale funa amagezi: Mu byonna by'ofuna, beeranga n'okutegeera. Gagulumizenga nago galikukuza: Galikutuusa mu kitiibwa, bw'onoogawambaatiranga. Galikutikkira engule ey'ebimuli, Engule ennungi.” Ayi mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; Olwo lw'oliwangaala emyaka emingi. Nkuyigirizza ekkubo ery'amagezi, Nkulaze amakubo ag'obugolokofu. Tewali kinakuziyizanga ng'otambula, Era bw'onoddukanga teweesittalenga. Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo. Toyingiranga mu kkubo ery'ababi, So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi. Olwesambanga, toluyitangamu. Lwewalenga, ggwe okwate olulwo ogende. Kubanga tebeebaka nga tebamaze kukola kabi. otulo tebatufuna, nga tebalina gwe basudde mu kabi. Kubanga bawoomerwa okukola ebibi, Nga bwe bawoomerwa emmere n'omwenge. Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋaanga akasana k'enjuba evaayo, Akagenda keyongera okwaka okutuuka mu ttuntu. Ekkubo ery'ababi liriŋŋaanga ekizikiza ekikute, Beesittala ne bagwa, nga tebamanyi kye beesittaaddeko. Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange; Wuliriza bulungi bye nkugamba. Tebivanga ku maaso go, Bikuumirenga mu mutima gwo. Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba, Era biwonya omubiri gwabwe gwonna endwadde. Weegenderezenga by'olowooza, Kubanga obulamu bwo, bufugibwa ebyo by'olowooza. Toyogeranga bya bulimba, Weewalenga okwogera eby'ensonyi. Tunula nga wetegerereza ddala gy'olaga, Tomagamaga Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo, Era amagenda go gonna ganywerenga. Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Tambuliranga mu bugolokofu, weewalenga okukola obubi. Mwana wange, ssangayo omwoyo, owulirize amagezi gange, Otegeere okumanya kwange. Olyoke omanyenga okusalawo okw'amagezi, Era olyoke oyogerenga eby'amagezi. Kubanga emimwa gy'omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw'enjuki, N'akamwa ke kasinga amafuta obugonvu: Naye kunkomerero akaawa ng'omususa, Asala ng'ekitala eky'obwogi obubiri. Ebigere bye bikka mu kufa; Ekkubo lye likkirira magombe. N'okulaba talaba kkubo lya bulamu, Amakubo ge geetooloola nga tamanyi. Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo bye mbagamba. Omukazi ng'oyo omwewalanga, N'oluggi lw'ennyumba ye tolusembereranga. Bw'otomwewala, abalala balitwala ekitiibwa kyo, N'ottibwa abakambwe ng'okyali muvubuka. Abagwira baleme okutwala by'okoleredde, Bye watuyanira bireme okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga; Ku nkomerero yo n'ofa ng'onakuwadde, Ng'okozze wenna, ng'okenenye. Olyejjusa lwaki wakyawanga okubuulirirwa, Omutima gwo ne gunyoomanga okunenyezebwa. Oligamba nti ssaawulirizanga bayigiriza bange, Sassangayo mwoyo ku bye banjigirizanga. Nabulako katono okuswala, Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina. Beeranga mwesigwa eri mukyala wo, Era gwewegattanga naye yekka. Lwaki ensulo zo zisaasaanira wonna, Amazzi ne gakulukutira mu nguudo? Amazzi ag'omu luzzi olwo gabeereranga ddala gago wekka, So si ga balala wamu naawe. Ensulo yo ebeerenga n'omukisa, Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo. omulungi ng'ennangaazi, omubalagavu ng'empeewo, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe. Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omwenzi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo? Kubanga omuntu byonna by'akola biri mu maaso ga Mukama, Era Mukama atunulira nnyo eŋŋendo ze zonna. Ebibi by'omuntu bimusiba, Okwonoona kwe gy'emigwa egimusiba. Alifa olw'obuteeziyiza, Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba. Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo, N'omuteerawo akabega, Ebigambo eby'omu kamwa ko bikukwasizza, Ebigambo eby'omu kamwa ko bikuteze. Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole, Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo; Genda weetoowaze weetayirire muliraanwa wo. Toganyanga maaso go kwebaka, Newakubadde ebikkowe byo okubongoota. Weerokole ng'empeewo bw'eva mu mukono gw'omuyizzi, Era ng'ennyonyi bw'eva mu mukono gw'omutezi. Genda eri enkolooto, ggwe omugayaavu; Lowooza empisa zaayo obeerenga n'amagezi: Eyo terina mwami, Newakubadde omulabirizi, newakubadde omufuzi, Naye ne yeeterekera eby'okulya byayo mu biro eby'okukunguliramu, N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka. Olituusa wa okwebakanga, ggwe omugayaavu? Olizuukuka ddi mu tulo two? Ogamba nti, “ Ka ngira neebakamu katono.” Olwo ng'ofunya emikono nga weebaka! Bwe butyo obwavu bulikujjira ng'omunyazi, N'ebyetaago byo bikuzinde ng'omutemu azze n'ebissi. Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja omubi, Atambula ng'abungeesa eŋŋambo. Atemya amaaso, aseesa bigere bye, Awenya n'engalo ze; Obubambaavu buli mu mutima gwe, asala obubi olutata; Asiga okukyawagana. Ennaku z'aliraba kyeziriva zijja nga tamanyiridde; Amangu ago alimenyeka, awatali kuwonyezebwa. Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa; Weewaawo, musanvu bya muzizo gy'ali: Entunula ey'amalala, olulimi olulimba, Emikono egitta abataliiko musango; Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, Ebigere ebyanguwa okukola ebibi; Omujulizi awa obujulizi obw'obulimba, N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda. Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, So tolekanga nnyoko by'akuyigiriza. Bikuumenga ennaku zonna mu mutima gwo, Obyesibenga mu bulago bwo. Bw'onootambulanga, binaakuluŋŋamyanga, Bw'oneebakanga, binaakukuumanga: Era bw'onoozuukukanga, binaayogeranga naawe. Kubanga etteeka ttaala, okuyigiriza, musana; N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu: Okukukuumanga eri omukazi omubi, N'eri ebigambo ebisikiriza eby'omukazi omwenzi. Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo, Era n'ebisige by'amaaso ge biremenga okukusikiriza. Omukazi malaaya, yeetunda olw'emmere obumere: Naye omukazi muk'omusajja, aleetera obulamu bwo okuzikirira. Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, Ebyambalo bye ne bitaggya? Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, Ebigere bye ne bitasiriira? Bw'atyo bw'abeera eyeegatta ne muka munne: Buli akola ekyo, talirema kubonerezebwa. Abantu tebanyooma mubbi abbye, Ng'alumwa enjala? Era bwe bamukwata aliwa emirundi musanvu. Awaayo ebintu byonna ebyo mu nnyumba ye. Ayenda ku muk'omusajja talina kutegeera: Akola bwatyo azikiriza obulamu bwe yennyini. Alinyoomebwa era alifuna ebiwundu, N'okuswala kwe tekulikoma. Kubanga obuggya butaamuusa omusajja nnyini mukazi, So talisaasira ku lunaku olw'okuwoolera eggwanga. Talikkiriza kiweebwayo kyonna okwenunula. So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi. Mwana wange, okwatanga ebigambo byange, Teweerabiranga biragiro byange. Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu. Kuumanga bye nkuyigiriza ng'emmunye ey'eriiso lyo. Bisibenga ku mukono gwo, Biwandiikenga mu mutima gwo. Gambanga amagezi nti, “Ggwe mwannyinaze,” Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe. Birikukuuma eri omukazi muk'omusajja, N'eri buli mukazi asikiriza n'ebigambo bye ebiwoomerevu. Kubanga lumu nnalingiza, Mu ddirisa ery'omu nnyumba yange, Ne ndaba mu batalina magezi, Ne ntegereza mu balenzi, Mwe nalabira omuvubuka atalina kutegeera. Yali atambula mu luguudo n'atuuka mu kakoona akaali okumpi n'ennyumba y'omwenzi, N'akwata ekkubo eridda mu nnyumba y'omwenzi. Bwali obudde nga buwungedde, Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi. Omukazi n'amusisinkana, Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi, era ow'omutima omugerengetanya. Muyombi era mukakanyavu; Nga tatereera waka, Oluusi ateegera mu nguudo, oluusi mu bifo ebyalukale, Era ateegera ku buli mugguukiriro. Awo n'agwa omuvubuka mu kifuba, n'amunywegera, N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti: “Mpaddeyo ssaddaaka, Leero mmaze okusasula obweyamo bwange. Kyenvudde nfuluma okukusisinkana, nfubye okukunoonya era nkulabye. Obuliri bwange maze okubwala, N'essuuka ez'ebikuubo eza ppamba w'e Misiri. Obuliri mbutaddemu ebyakawoowo, Eby'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa ebirala. Jjangu tusule ffembi okukeesa obudde; Twesanyuse n'okwagala. Kubanga baze tali ka, Yatambula lugendo lwa wala: Yagenda n'ensimbi nnyingi nnyo. Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo.” Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi, Amuwaliriza okugenda naye olw'ebigambo bye ebiwoomerevu. Amangu ago amugoberera, Ng'ente gye batwala okusala, Oba ng'ensolo egwa mu mutego. Mw'eneefumitirwa akasaale efe. Yali ng'ekinyonyi ekyanguwa okugwa mu kitimba. Yali tamanyi nti afiirwa obulamu bwe. Kale nno, baana bange, mumpulirenga, Era mussengayo omwoyo eri ebigambo bye mbagamba. Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze. Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Abafiiridde ewuwe tobabala n'obamalayo. Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe Kuba kusemberera kufa. Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleekaana okuwulirwa? Ku butunnumba okumpi n'ekkubo, Mu masaŋŋanzira g'enguudo. Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Galeekaanira ku nzigi abantu we bayingirira. “Mmwe abantu, mbakoowoola, Mbayita mwenna abaana b'abantu. Mmwe abatalina magezi, muyige okwegendereza. Nammwe abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera. Muwulire, kubanga njogera ebigambo ebirungi ennyo. Byonna bye njogera bya nsonga. Kubanga bye njogera bya mazima, Soogera bya bulimba nakatono. Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kikyamu wadde ekikyukakyuka. Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri oyo ayagala okumanya. Mwagale bye njigiriza okusinga ffeeza, Era mwagale okumanya okusinga zaabu ow'omuwendo. Kubanga amagezi gasinga amayinja ag'omuwendo, Tewali na kintu kyegombebwa ky'oyinza okugeraageranya nago. Nze magezi, nsangibwa mu bwegendereza. Era nnoonya okumanya n'okuteesa. Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Nkyawa amalala n'okwepanka, N'okwogera eby'obulimba. Mbuulirira era nnina amagezi amatuufu. Nnina okutegeera, nnina amaanyi. Nnyamba bakabaka okufuga, N'abafuzi okulagira eby'obwenkanya. Nnyamba abalangira okufuga, N'abakungu, n'abalamuzi bonna ab'oku nsi. Njagala abo abanjagala; N'abo abanyiikira okunnoonya balindaba. Obugagga n'ekitiibwa biri nange; Obugagga obutuufu era obw'enkalakkalira. Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, Zaabu ow'omuwendo, N'amagoba gange gasinga ffeeza omuyooyoote. Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, N'ekkubo ery'obwenkanya. Abanjagala mbawa obugagga, Ne njijuza amawanika gaabwe. Mukama yantonda ku ntandikwa ye mirimu gye, Omubereberye w'omulimu gwe ogw'edda. Nnateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo. Najja tewannabaawo nnyanja, wadde ensulo ezireeta amazzi. Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, N'obusozi nze nnabusookawo. Katonda yali tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Wadde enfuufu embereberye ey'ensi. Bwe yali abamba eggulu, nnaliwo, Bwe yali assaawo enkulungo mu buziba bwe nnyanja. Bwe yawanika ebire mu bbanga, N'assaawo ensulo ez'ennyanja. Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okubuuka ensalo zaayo, Bwe yalamba emisingi gy'ensi: Kale nze nnamuli ku lusegere ng'omukoza. Era bulijjo yansanyukiranga, Nga ndigitira waali. Nga nsanyukira ensi ye n'ebigirimu, N'essanyu lyange kwe kubeera n'abaana b'abantu. Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata bye mbagamba. Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n'amagezi, So temugagaananga. Alina omukisa omuntu ampulira, Abeera ku luggi lwange bulijjo, Ng'alindirira ku mulyango gw'enju yange, Kubanga buli anzuula aba azudde obulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama. Naye oyo alemwa okunzuula, yeerumya yekka. Bonna abankyawa, baba baagala kufa.” Amagezi gazimbye ennyumba yaago, Gasimbye empagi zaago musanvu: Gasse ensolo zaago; gatabudde omwenge gwago; Era gategese ekijjulo. Gasindise abawala baago, boogerera waggulu Mu bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu, Nti, “Buli atalina magezi ayingire muno.” Nooyo atalina kutegeera gamugamba nti, “Jjangu olye ku mmere yange, Era onywe ku mwenge gwe ntabudde. Lekanga abo abatalina magezi, obeerenga omulamu.” Era tambuliranga mu kkubo ery'okutegeera. Anenya omukudaazi yeeswaza: N'oyo abuulirira omubi yeerumya yekka. Tobuuliriranga mukudaazi aleme okukukyawa: Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga. Yigirizanga ow'amagezi, aneeyongeranga okuba n'amagezi: Yigirizanga omutuukirivu, aneeyongeranga okuyiga. Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: N'okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera. Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwako, N'emyaka egy'obulamu bwo girisukkirizibwa. Bw'oba n'amagezi, amagezi go ga kuyamba, Naye bw'onyooma amagezi weerumya wekka. Omukazi omusirisiru aleekaana; Talina magezi, so taliiko ky'amanyi. Era atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu, Okuyita abo abayitawo, Abali ku ngendo zaabwe, Nti, “Buli atalina magezi ajje wano.” N'oyo atalina kutegeera amugamba nti, “Amazzi amabbe ge gawooma, N'emmere eriirwa mu nkukutu, ye esanyusa.” Naye tamanyi ng'abafu bali eyo, Nga n'abagenyi be, bali magombe. Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina. Obugagga obw'obubi tebuliiko kye bugasa: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa. Mukama taalekenga muntu mutuukirivu kufa njala; Naye ababi abaziyiza okufuna bye beegomba. Emikono eminafu gireetera nnyinigyo obwavu; Naye Emikono gy'omunyiikivu, gimuleetera obugagga bungi. Akungulira mu kyeya mwana wa magezi: Naye oyo eyeebakira mu biro eby'okukunguliramu ye mwana akwasa ensonyi. Emikisa giba ku mutwe gw'omutuukirivu: Naye akamwa k'ababi kakisa eby'obukambwe bye bakola. Ekijjukizo ky'omutuukirivu kirina omukisa: Naye erinnya ly'ababi lirivunda. Omuntu omutegeevu, akwata amateeka; Naye omubuyabuya alizikirira. Omuntu atambulira mu bugolokofu, aba n'emirembe, Naye omukumpanya, alimanyibwa. Oyo atemya eriiso, okubikkirira amazima aleeta ennaku; N'oyo ayogera eby'obusirusiru alizikirira. Ebigambo by'omuntu omutuukirivu, nsulo ya bulamu; Naye akamwa k'ababi kakisa eby'obukambwe bye bakola. Obukyayi buleeta ennyombo; Naye okwagala kubikka ku byonoono byonna. Mu bigambo by'omutegeevu, mulimu amagezi; Naye omugongo gw'omusirusiru gusaanira kukubwa miggo. Ab'amagezi batereka okumanya: Naye omusirusiru by'ayogera, bimuleetera okuzikirira. Ebintu eby'omugagga kye kibuga kye eky'amaanyi: Abaavu okuzikirira kwabwe bwavu bwabwe. Omulimu ogw'omutuukirivu guleeta bulamu; Ekyengera eky'omubi kireeta kwonoona. Oyo ali mu kkubo ery'obulamu assaayo omwoyo eri okubuulirirwa: Naye oyo aleka okunenyezebwa awaba. Oyo akweka obukyayi, aba mulimba; N'oyo awaayiriza musirusiru. Mu kwogera ebigambo ebingi, temubulamu kusobya; Naye oyo asirika, aba omugezi. Olulimi lw'omutuukirivu ffeeza nnonde: Ebirowoozo by'ababi, tebiriiko kye bigasa. Ebigambo by'omutuukirivu bigasa bangi: Naye abasirusiru bafa olw'okubulwa okutegeera. Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, So tagatta buyinike bwonna wamu nagwo. Okukola obubi muzannyo gwa musirusiru: Naye okukola eby'amagezi, kye kisanyusa omuntu alina okutegeera. Omubi ky'atya kirimujjira: N'ekyo abatuukirivu kye beegomba balikiweebwa. Kibuyaga bw'akunta, omubi nga takyaliwo, Naye omutuukirivu alinywezebwa emirembe gyonna. Ng'omwenge omukaatuufu bwe gunyenyeeza amannyo, era ng'omukka bwe gubalagala amaaso, N'omugayaavu bw'alumya bw'atyo abo abamutuma. Okutya Mukama kuwangaaza: Naye emyaka gy'ababi, girisalibwako. Abatuukirivu basuubira essanyu gye bujja, Naye ababi tebalina kalungi ke basuubirayo. Ekkubo lya Mukama kigo eri omugolokofu; Naye kuzikirira eri abo abakola ebitali bya butuukirivu. Omutuukirivu tajjululwenga ennaku zonna: Naye ababi tebalibeera mu nsi. Akamwa k'omutuukirivu koogera eby'amagezi: Naye abalimba balimalibwawo. abatuukirivu boogera ebisaana, Naye ababi boogera bya bubambaavu. Mukama akyawa okukozesa ebipimo ebitali bituufu; Naye asanyukira ekipimo ekituufu. Okuba n'amalala, kuddirirwa kuswala; Naye okwetoowaza, ge magezi. Obwesimbu bw'omuntu omugolokofu, bumuluŋŋamya; Naye obukumpanya, buzikiriza ab'enkwe. Obugagga tebugasa, Katonda nga asunguwadde. Naye obutuukirivu buwonya mu kufa. Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye. Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya: Naye ab'enkwe, balisibibwa okwegomba kwabwe bo. Omuntu omubi bw'afa, okusuubira kwe kuzikirira. N'essuubi ly'abatali batuukirivu, libula. Omutuukirivu awonyezebwa ennaku ye, Ate n'eddira omubi. Atatya Katonda ayogera, ebizikiriza munne. Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw'okumanya. Abatuukirivu bwe bafuna ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe bafa, wabaawo okuleekaana olw'essanyu. Omukisa ogw'abagolokofu gwe gugulumiza ekibuga: Naye ebigambo by'ababi, bikireetera okuzikirira. Anyooma munne talina kutegeera; Naye omuntu alina okutegeera asirika. Abungeesa eŋŋambo abikkula ebyama: Naye omwesigwa, asirikira ekigambo. Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa: Naye awali abawi b'amagezi abangi, we waba emirembe. Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi talirema kwejjusa, Naye akyawa okweyimirira, anaaba n'emirembe. Omukazi ow'ekisa assibwamu ekitiibwa; N'abasajja abakakaalukanyi, bafuna obugagga. Ow'ekisa akola bulungi emmeeme ye: Naye omukambwe yeerumya yekka. Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira. Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu: N'oyo agoberera obubi yetta yekka. Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama: Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira basanyukira. Awatali kubuusabuusa, ababi bakubonerezebwa; Naye abatuukirivu baliwonyezebwa. Ng'eky'obuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi, Bw'atyo bw'abeera omukazi omulungi atalina mpisa. Abatuukirivu beegomba birungi byereere; Naye ababi kye basuubira busungu. Waliwo abasaasaanya, naye ate nga beeyongera kugaggawala; Era waliwo akodowala okusinga bwe kigwana, naye neeyongera kwavuwala. Omuntu omugabi aligaggawala; N'oyo ayamba abalala, naye aliyambibwa. Amma banne emmere, abantu balimukolimira; Naye oyo aguzaako abalala, bamusabira omukisa. Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anafuna okuganja; Naye oyo anoonya okukola ekibi, kyanafunanga. Eyeesiga obugagga bwe aligwa: Naye abatuukirivu banaabanga ng'omuti ogutojjedde. Atawanya ab'omu maka ge, alisikira bbanga; N'omusiru anaafugibwanga oyo ow'amagezi. Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu: N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu. Omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: N'omubi n'omwonoonyi nabo balifuna ekibasaanira! Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya: Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋaanga ensolo. Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa: Naye omuntu ow'enkwe alimusalira omusango okumusinga. Omuntu taanywezebwenga lwa bubi: Naye omutuukirivu talisigukululwa. Omukazi eyeegendereza aleetera bba ekitiibwa; Naye aswaza abanga kookolo mu magumba ga bba. Ebirowoozo eby'abatuukirivu biba bituufu; Naye ababi bye bateesa bulimba. Ebigambo eby'ababi bya butemu, Naye ebigambo by'abagolokofu biwonya abantu. Ababi bameggebwa ne babula: Naye ennyumba ey'abatuukirivu eriyimirira. Omuntu asiimibwa ng'amagezi ge bwe gali: Naye oyo ow'omutima omubi, anyoomebwa. Omuntu omwetoowaze, eyekolera, Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa naye nga talina ky'alya. Omuntu omutuukirivu alabirira ensolo ze, Naye omubi tazisaasira, aba mukambwe. Alima ettaka lye, aliba n'emmere nnyingi; Naye agoberera ebitaliimu talina kutegeera. Omunaala gw'ababi, gumenyeka ne gugwa; Naye omusingi gw'abatuukirivu, gunywera. Omuntu omubi, ebigambo bye bye bimukwata, Naye omutuukirivu awona emitawaana. Omuntu alifuna empeera esaanira, Ebyo by'akola ne by'ayogera. Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye: Naye ow'amagezi awuliriza bye bamubuulirira. Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu asirikira okuvumibwa. Ayogera amazima, ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa. Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza, ebigambo bye ne biba ng'ekitala okufumita. Naye ebigambo by'ab'amagezi, biwonya. Ebigambo eby'amazima bibeerera emirembe gyonna: Naye eby'obulimba, bya kaseera buseera. Obulimba buli mu mitima gy'abo abateesa okukola obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu. Omutuukirivu talibaako kabi k'aliraba: Naye ababi balijjula ebizibu. Mukama akyayira ddala aboogera eby'obulimba; Naye abo abakola eby'amazima basanyukira. Omuntu omutegeevu akisa bya manyi; Naye omusiru, alangirira obutamanya bwe. Okunyiikira okukola, kukufuula wa buyinza; Naye omugayaavu akozesebwa omulimu ogw'obuddu. Ennaku y'oku mutima, ereeta okwennyamira; Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa. Omutuukirivu aluŋŋamya banne, Naye ekkubo ery'ababi libawabya. Omuntu omugayaavu tasobola wadde kufumba ky'ayizze; Naye omunyiikivu, afuna eby'obugagga bingi. Mu kkubo ery'obutuukirivu mwe muli obulamu; naye ekkubo ly'obubi lirimu okufa. Omwana ow'amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa. Omuntu omulungi afuna ebirungi olw'ebigambo by'ayogera; Naye omuntu ow'enkwe yeegomba kukola bya bukambwe. Oyo eyeegendereza mu kwogera, akuuma obulamu bwe; Naye ayogerayogera ennyo, yeereetera okuzikirira. Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba, naye tafuna bye yeegomba. Naye omunyiikivu, agaggawala. Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba: Naye omuntu omubi omugwagwa, akola ebiswaza. Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu: Naye ebibi bisuula omwonoonyi. Waliwo abeeyisa ng'abagagga, naye nga talina kantu. Ne wabaawo eyeeyisa ng'omwavu, naye ng'alina obugagga bungi. Obugagga bwe bununula obulamu bw'omuntu: Naye omwavu, talina kiyinza kumununula. Abatuukirivu bayakayakana ng'ettaala eyaka, Naye ababi balinga ettaala ezikidde. Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abakkiriza okubuulirirwa. Obugagga obufunibwa amangu, era buggwaawo mangu. Naye oyo akuŋŋaanya empolampola, ng'akola emirimu aligaggawala. Okulwawo okufuna ky'osuubira, kulwaza ebirowoozo; Naye oyo afuna kye yeegomba addamu obulamu. Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira: Naye oyo agondera ekiragiro aliweebwa empeera. Enjigiriza y'ab'amagezi, nsuulo ya bulamu, Eggya abantu mu kufa. Obutegeevu buleetera omuntu okuganja; Naye ekkubo lya b'enkwe, libaleetera okuzikirira. Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya; Naye omusirusiru ayolesa obutamanya bwe. Omubaka omubi, assa abantu mu mitawaana; Naye omutume omwesigwa aleetawo okuwonyezebwa. Obwavu n'okuswala bijjira oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo okunenyezebwa, assibwamu ekitiibwa. Omuntu asanyuka kye yeegomba bwakifuna; Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru. Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi: Naye akwana abasiru, wa kulaba nnaku. Obubi bugoberera abalina ebibi: Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi. Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be: N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu. Ennimiro z'abaavu, zibala emmere nnyingi; Naye abatali benkanya tebaabaganya kugirya. Atabonereza mwana we, aba amukyaye; Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali. Omutuukirivu alya, emmeeme ye n'ekkuta: Naye omubi alumwa enjala bulijjo. Omukazi ow'amagezi azimba ennyumba ye, Naye omusirusiru agyabya n'emikono gye ye. Atambulira mu bugolokofu y'atya Mukama; Naye atali mwesimbu, aba anyooma Mukama. Omusiru by'ayogera, gwe muggo ogumukuba; Naye ebigambo by'ow'amagezi, bimukuuma. Atalina nte zirima, taba na mmere; Naye azirina, aba n'emmere nnyingi. Omujulirwa omwesigwa talimba: Naye omujulirwa ow'obulimba ayogera eby'okuwaayiriza. Omunyoomi, anoonya amagezi n'atagafuna; Naye omutegeevu, ayiga mangu. Vva awali omusiru, Talina bigambo by'amagezi bya kugamba. Amagezi g'omutegeevu, gamumanyisa eky'okukola; Naye abasiru obusirusiru bwabwe bubalimbalimba. Abasiru tebafaayo bwe bazza omusango; Naye abagolokofu bafuna ekisa kya Mukama. Omutima gumanya okulumwa kwagwo; So n'omugenyi teyeetabula mu ssanyu lyagwo. Ennyumba ey'ababi erisuulibwa: Naye eweema ey'abagolokofu eneebanga n'omukisa. Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye kunkomerero, nga limutwala mu kufa. Ne mu kuseka omutima gunakuwala; N'essanyu liyinza okuvaamu obuyinike. Omuntu omubi alifuna ekimugwanira; N'omuntu omulungi aliweebwa empeera egwanira ebikolwa bye. Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: Naye omuntu omutegeevu, amala kwetegereza. Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi: Naye omusiru aba n'ettitimbuli, amala gakola. Ayanguwa okusunguwala alikola eby'obusirusiru: N'omuntu asalira banne enkwe, akyayibwa. Abasiru baba babuyabuya; Naye abategeevu bamanya bingi. Ababi balivunnamira abalungi; N'aboonoonyi balyegayiririra ku miryango gy'abatuukirivu. Omwavu ne mikwano gye gimukyawa; Naye omugagga aba n'emikwano mingi. Anyooma munne ayonoona: Naye asaasira abaavu alina omukisa. Abateesa okukola obubi bawaba; Naye okusaasirwa n'amazima binaabanga n'abo abateesa okukola obulungi. Okubaako omulimu gw'okola, kigasa; Naye okwogera obwogezi kwavuwaza bwavuwaza. Ab'amagezi bagaggawala; Naye ababuyabuya, basiruwala. Omujulirwa ow'amazima awonya obulamu bw'omuntu; Naye aleeta eby'obulimba abulyamu olukwe. Okutya Mukama kugumya nnyo omuntu; Era kukuuma abaana be. Okutya Mukama nsulo ya bulamu, Era kuwonya omuntu okufa. Obungi bwa abantu kye kitiibwa kya kabaka; Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira. Alwawo okusunguwala alina okutegeera kungi: Naye asunguwala amangu, akola n'ebitajja nsa. Emirembe mu mutima, bwe bulamu bw'omubiri; Naye obuggya, bugulya nga kookolo. Ajooga omwavu, anyiiza Omutonzi we; Naye asaasira oyo eyeetaaga, amussaamu ekitiibwa. Omubi azikirizibwa kwonoona kwe; Naye omutuukirivu afa alina essuubi. Amagezi gabeera mu mutima gw'oyo alina okutegeera: Naye ekiri mu mitima gy'abasiru, kimanyiddwa. Obutuukirivu bugulumiza eggwanga: Naye ekibi kivumisa eggwanga lyonna. Omuddu akola eby'amagezi y'aganja eri kabaka: Naye asunguwalira oyo akola ebiswaza. Okuddamu n'eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi; Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu. Ab'amagezi boogera, ebisaana; Naye abasiru boogera bya busirusiru. Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi. Okwogera eby'ekisa, kuleeta obulamu; Naye ebigambo eby'obukambwe, bikosa omutima. Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe: Naye omutegeevu, akkiriza okunenyezebwa. Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku. Ab'amagezi bye boogera bibunyisa okumanya; Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola. Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama: Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira. Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu. Ava mu kkubo ettuufu, wa kukangavvulwa nnyo. Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa. Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale kiki ky'atamanyi mu mitima gy'abantu? Omunyoomi tayagala kunenyezebwa: Era tayagala kwebuuza ku ba magezi. Asanyuka mu mutima, ne ku maaso amwenya; Naye obuyinike obw'omutima bwennyamiza omuntu. Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye abasiru, basanyukira mu butamanya bwabwe. Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo omusanyufu, aba ng'ali ku mbaga ey'olubeerera. Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga obungi obuliko obuyinike. Amaluma awali okwagalana Gasinga okulya ebisava, awali okukyawagana. Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka. Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa: Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo. Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina. Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera atambulira mu butuukirivu. Awatali kuwabulwa, okuteesa kufa; Naye awali abawabuzi abangi, ebiteesebwa birama. Okuddamu ekituufu, kusanyusa omuntu. N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi! Abantu ab'amagezi bakwata ekkubo eryambuka awali obulamu, Ne beewala eriserengeta mu kufa. Mukama alisuula ennyumba ey'ab'amalala; Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu. Mukama tayagala birowoozo bya muntu mubi, Naye asanyukira ebigambo by'omulongoofu. Ayaayaanira amagoba ag'obukumpanya, aleetera amaka ge emitawaana; Naye akyawa enguzi, y'aliba omuwangaazi. Omuntu omutuukirivu, amala kulowooza nga tanaba kwanukula; Naye omubi ayogera ebitasaana. Mukama aba wala ababi: Naye awulira okusaba kw'abatuukirivu. Okutunuza essanyu, kisanyusa omutima; N'ebigambo ebirungi bireetera omuntu okweyagala. Okutu okuwulira okunenya okw'obulamu Kunaabeeranga mu b'amagezi. Agaana okubuulirirwa yeefiiriza yekka. Naye oyo akkiriza okunenyezebwa, afuna okutegeera. Okutya Mukama, kuyigiriza omuntu amagezi; Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa. Omuntu ateekateeka by'anaakola; Naye Mukama y'asalawo eky'enkomerero. Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye: Naye Mukama apima emyoyo. Emirimu gyo gikwasenga Mukama, By'otegese lwe binaatuukirizibwanga. Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo: Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku. Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Taliwona nakatono kubonerezebwa. Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi. Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Amukyusiza abalabe, okuba mikwano gye. Okufuna akatono mu mazima, Kisinga okufuna ebingi, mu bukumpanya. Omuntu y'ateekateeka by'anaakola; Naye Mukama yabiruŋŋamya okutuukirira. Kabaka aluŋŋamizibwa mu by'ayogera; Natasobya bwaba nga alamula omusango. Ebigera n'eminzaani ebituufu Mukama by'ayagala; Ebipimibwa byonna bibeere mu mazima. Kibi bakabaka okukola ebibi; Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza okufuga kwe. Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'amazima. Kabaka bw'asunguwala ayinza okutta; Naye omuntu ow'amagezi amuwooyawooya mangu. Okusanyuka kwa kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kulinga enkuba ya ttoggo. Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu! Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza. Abantu abagolokofu beewala okukola obubi; N'oyo eyeegendereza mu mpisa ze awonya emmeeme ye. Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo. Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agabana omunyago wamu n'ab'amalala. Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi: Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa. Omuntu ow'amagezi, gwe bayita omutegeevu; Ow'ebigambo ebinyunyuntuvu, ayanguwa okusikiriza abantu. Eri omutegeevu, amagezi bwe bulamu; Naye okubuulirira omusiru, kumala biseera. Ow'amagezi ayogera bizimba, Ebisikiriza abantu. Ebigambo ebisanyusa biringa mubisi gwa njuki okuwooma; Bizzaamu amaanyi, era bireeta obulamu. Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye ku nkomerero limutwala mu kufa. Obwetaavu buleetera omuntu okukola; Alyoke afune ky'anaalya. Omuntu ataliiko ky'agasa agunja obubi; Era by'ayogera bibalagala nga ayokeddwa omuliro. Omuntu omubambaavu aleeta ennyombo; N'omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo. Omuntu ow'effujo asendasenda munne, N'amutwala mu kkubo eritali ddungi. Atta ku liiso, ateesa bya bulimba; Aluma emimwa atuukiriza obubi. Envi ez'obukadde, ngule ya kitiibwa, efunibwa oyo akola eby'obutuukirivu. Alwawo okusunguwala asinga omuzira nnamige; Eyeefuga mu mutima, asinga awangula ekibuga. Akalulu kasuulibwa okulaba ekivaamu; Naye Mukama yasalawo ekivaamu. Akamere akaluma kolya ng'olina emirembe, Kakira embaga gy'olira mu nnyumba omuli okuyomba. Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akola ebitasaana. Era aliba n'omugabo ogw'obusika ng'omu ku b'oluganda. Entamu erongoosa ffeeza, n'emu kabiga mwe basanusiza zaabu; Naye Mukama y'ageza emitima. Omukozi w'ebibi, assaayo omwoyo okuwuliriza emboozi embi; N'omulimba anyumirwa okuwuliriza ebigambo eby'ettima. Akudaalira omwavu avvoola Omutonzi we: N'oyo asanyukira obuyinike bwa banne, talirema kubonerezebwa. Abakadde basanyukira abazzukulu baabwe, N'abaana beenyumiririza mu bakitaabwe. Okwogera eby'amakulu tekukolebwa musiru; N'omulangira tasaana kwogera by'abulimba. Enguzi ebanga ejjinja ery'omuwendo eri oyo agiwa; N'emwesiguza nti enemukolera byonna byayagala. Asonyiwa ekisobyo, anoonya okwagala; Naye ayeeyereza ekisobyo ayawukanya ab'omukwano ennyo. Omuntu ategeera anenyezebwa lumu n'ayiga; Okusinga omusiru akubwa emiggo ekikumi (100). Omuntu omubi buli kiseera ajeema; Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata. Waakiri omuntu asisinkane eddubu ennyagiddwako abaana baayo; Okusinga okusisinkana omusiru ng'akola eby'obusiru bye. Asasula obubi olw'obulungi, Obubi tebuliva ku nnyumba ye. Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana, waleme okubalukawo oluyombo. Awa omubi obutuukirivu n'oyo asalira omutuukirivu okumusinga, Bombi benkana okuba ab'omuzizo eri Mukama. Lwaki omusiru awaayo sente ze okufuna amagezi, Nga talina kutegeera? Ow'omukwano aba n'okwagala ekiseera kyonna; Era ow'oluganda abaawo okuyamba mu buyinike. Omuntu omusiru awa obweyamo; okutekerawo munne akabega. Ayagala okuyomba ayagala okusobya: N'oyo eyeegulumiza anoonya okuzikirira. Alina omutima omubambaavu talifuna birungi; N'oyo ayogera obubi, aligwa mu katyabaga. Azaala omusiru yeereetera obuyinike; Era kitaawe w'omusiru talina ssanyu. Okusanyuka ddagala eriwonya; Naye okunakuwala, kukozza omubiri. Omuntu omubi akkiriza okutwala enguzi; Alyoke akyamye ensala y'omusango. Omuntu omutegeevu ategeka okukola eby'amagezi; Naye omusiru, amala gatandika kino na kiri. Omwana omusiru anakuwaza kitaawe, Era aleetera nnyina obulumi. Era okubonereza omutuukirivu si kulungi, Newakubadde okukuba abalungi ng'obalanga obugolokofu bwabwe, Omutegeevu yeefuga mu kwogera; N'oyo alina omwoyo ogw'emmizi muntu mutegeevu. Omusiru bw'asirika bamuyita wa magezi; Bw'abunira bamulowooza nga omutegeevu. Eyeeyawula ku balala aba anoonya bibye yekka, Era awakanya amagezi gonna amatuufu. Omusiru tafaayo kutegeera, Naye kyafaayo kwe kwogera ebiri mu mutima gwe. Ebibi bireeta okunyoomebwa; obuswavu, buleeta n'okuvumibwa. Ebigambo omuntu by'ayogera bya magezi nga amazzi amawanvu; Ensulo ey'amagezi mugga ogukulukuta. Si kirungi okuginya omubi, N'okusaliriza omutuukirivu. Omusiru bw'atandika oluyombo, aba yeesabira kukubwa miggo. Omusiru by'ayogera, bye bimuzikiriza, Ebigambo by'ayogera ze nkoba ezimusiba. Ebigambo by'ow'olugambo biringa emmere ewooma, Biyingirira ddala mu bulamu bw'omuntu. Oyo akola emirimu n'obugayaavu, Talina njawulo n'oyo agyonoona. Erinnya lya Mukama kigo ky'amaanyi: Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe. Omugagga obugagga bwe ge maanyi ge, Era bulinga bbugwe omuwanvu okumutaasa. Okwekulumbaza, kwe kukulembera okuzikirira; N'okwetoowaza, kwe kukulembera ekitiibwa. Addamu nga tannawulira, aba musiru, era aswala. Omwoyo gw'omuntu omumalirivu, gumuwanirira mu bulwadde. Naye omwoyo oguterebuse, ani ayinza okugugumiikiriza? Omutima gw'omutegeevu gunoonya okumanya; N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya. Ekirabo omuntu kyaleeta, kimuseguliza, N'ekimutuusa mu maaso g'abakulu. Asooka okuwoza afaanana nga ye mutuufu, okutuusa omulala lw'ajja n'amulumiriza. Akalulu kamalawo empaka, Era kalamula ab'amaanyi. Kyangu okuwamba ekibuga eky'amaanyi, okusinga okutabagana n'ow'oluganda anyiize, Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo. Olubuto lw'omuntu lulikkuta ebibala eby'akamwa ke; Ekyengera eky'omu mimwa gye kirimumala. Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi; N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo. Alaba omukazi okumuwasa aba azudde ekirungi, Era afuna okuganja eri Mukama. Omwavu yeegayirira: Naye omugagga addamu na bboggo. Abantu abamu beefuula okuba ab'omukwano; Naye waliwo ow'omukwano akunywererako n'okusinga ow'oluganda. Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira omulimba era omusiru. Si kirungi obutamala kulowooza; N'oyo ayanguwa ennyo ng'atambula abula. Obusirusiru bw'omuntu bwe bumuleetera emitawaana; Ate anyiigira Mukama. Obugagga buleetera omuntu emikwano mingi; Naye omwavu ne gy'alina gimwabulira. Omujulirwa ow'obulimba talirema kubonerezebwa; N'omulimba talibaako wawonera. Bangi abagala okuganza omugabi, Era buli muntu aba mukwano gw'oyo awa ebirabo. Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Akanda kubakoowoola, naye bo nga tebadda. Afuna amagezi yeeyagaliza ekirungi, Anyweza okutegeera aliraba ebirungi Omujulirwa ow'obulimba talirema kubonerezebwa; N'oyo alimba alizikirira. Okwejalabya tekusaanira musiru; Era n'omuddu tasaanidde kufuga balangira. Okufumiitiriza okw'amagezi, kulwisaawo omuntu okusunguwala; Era okusonyiwa ekisobye kye kitiibwa kye. Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye okwagala kwe kuli ng'omusulo ogunnyikiza omuddo. Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe: N'okuyomba kw'omukazi ye nkuba etonnya olutata. Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama. Omugayaavu yeebaka otulo tungi; N'omuntu atakola mulimu alirumwa enjala. Akuuma ekiragiro aliba n'emirembe, Naye atabissaako mwoyo alifa. Awa omwavu awola Mukama, Era Mukama alimusasula olw'ekikolwa kye ekirungi. Kangavvulanga omwana wo, nga wakyaliwo essuubi; So tomuleka kuzikirira. Omuntu ow'ekiruyi ekingi aliriwa: Kubanga bw'olimuwonya kirikugwanira okukola bw'otyo nate omulundi ogwokubiri. Sangayo omwoyo eri okubuulirirwa, okkirizenga okuyigirizibwa, Olwo lw'olibeera n'amagezi gye bujja. Omuntu ateekateeka bingi mu mutima gwe okukola; Naye Mukama by'ayagala, bye bituukirira. Omuntu ekimwagaza kisa kye: N'omwavu akira omulimba. Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi. Omugayaavu akoza emmere mu nva, N'alemwa okugissa mu kamwa. Bonereza omunyoomi, atalina magezi ayige. Era buulirira alina okutegeera, Naye aneeyongera okutegeera. Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume. Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa, Okuleeta okukyama obukyami n'ova mu kumanya. Omujulirwa ow'obulimba anyooma obwenkanya, N'abantu ababi, bawoomerwa okukola ebibi. Abanyoomi tebaliremwa kusingibwa musango; N'abasiru tebaliremwa kubonerezebwa. Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli agwettanira talina magezi. Kabaka bw'asunguwala, atiisa ng'empologoma ewuluguma. Amusunguwaza akosa obulamu bwe yekka. Kya kitiibwa okwewala ennyombo, Naye omusiru yayagala okuyomba. Omugayaavu atayagala kulima mu nkuba ya ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu. Omuntu by'alowooza, biri ng'amazzi agali mu luzzi oluwanvu; Omutetenkanya, y'agasenayo. Abantu bangi abeeyita ab'ekisa; Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba? Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, Abaana be abaddawo balina omukisa. Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Apima n'azuula ekirungi n'ekibi. Ani ayinza okwogera nti, “Nnongoosezza omutima gwange, Ndi mulongoofu, sirina kibi kyonna?” Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana Byombi bya muzizo eri Mukama. Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Oba nga mulongoofu, oba nga mulungi. Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba, Byombi Mukama ye yabikola. Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu; Vvanga mu tulo, ofunenga emmere gy'olya. “Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa,” bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugula n'alyoka yeewaana. Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'ogera eby'amagezi kya buyonjo eky'omuwendo omungi. Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi. Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu; Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu. Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era lwananga olutalo ng'okulemberwa amagezi. Abungeesa eŋŋambo, takuuma byama, Kale tomwesemberezanga oyo ali bwatyo. Akolimira kitaawe oba nnyina, Aliba ng'ettaala ezikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi. Bw'ofuna by'otosoose kuteganira, Ku nkomerero tebiba na mukisa. Tewewereranga kuwoolera ggwanga, Olekanga Mukama n'akulwanirira. Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama; Ne minzaani ey'obulimba si nnungi. Mukama yafuga okutambula kw'omuntu; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye? Kuba kwesuula mu mutego, okwanguyiriza okusuubiza Mukama ekintu; N'olyoka weerowooza ng'omaze okweyama. Kabaka ow'amagezi azuula abakola obubi, N'ababonereza n'obukambwe. Omwoyo gw'omuntu ye ttaala ya Mukama, Emulisa byonna eby'omunda. Ekisa n'amazima biwanirira kabaka; N'okusaasira kwe kunyweza entebe ye. Ekyenyumirizisa abavubuka, maanyi gaabwe; N'omutwe ogw'envi, bwe bulungi bw'abakadde. Emiggo egiruma gigolola ow'empisa embi; N'okuswanyulwa, kuggyamu emize. Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa n'aguza gy'ayagala yonna. Buli kkubo ery'omuntu ddungi mu maaso ge ye: Naye Mukama y'apima emitima. Okukola ebituufu n'obwenkanya, Kukkirizibwa Mukama okusinga okumuwa ssaddaaka. Amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala, Ebyo byombi bibi. Entegeka z'omunyiikivu, zimuviiramu amagoba; Naye oyo alulunkanira ebintu, yeereetako obwavu. Obugagga obufunibwa mu bulimba, Buyita nga mpewo, ababunoonya banoonya okufa. Obukambwe bw'ababi bulibamalawo, Kubanga bagaana okukola eby'amazima. Ekkubo ly'oyo azziza omusango si golokofu; Naye omulongoofu yeeyisa bulungi. Waakiri okubeera mu kasonda ku nnyumba waggulu, N'otoba na mukazi muyombi, mu nnyumba engazi. Emmeeme y'omubi yeegomba okukola ebibi, Teyinza kusaasira muntu mulala yenna. Omunyoomi bw'abonerezebwa: atalina magezi ayiga; Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa yeeyongera okumanya. Katonda omutuukirivu, amanyi ebiri mu nnyumba y'omubi; Ababi balimeggebwa ne bazikirira. Aziba amatu ge omwavu ng'akaaba, Naye bwalikaaba, taliwulirwa. Ekirabo ekiweebwa mu kyama kikkakkanya obusungu, N'okuyiiyiza omuntu ekirabo, kimumalako ekiruyi. Okukolanga eby'amazima kisanyusa omutuukirivu; Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu. Omuntu awaba okuva mu kkubo ery'okutegeera Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery'abafu. Ayagala amasanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'ebyasava, taligaggawala. Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu; N'oyo asala enkwe addamu kifo ky'abagolokofu. Waakiri okubeera, mu nsi ey'eddungu, Okusinga okubeera n'omukazi anyiiganyiiga era omuyombi. Mu nnyumba y'omuntu ow'amagezi, mubeeramu obugagga obw'omuwendo omungi; Naye omusiru abumalawo byonna. Agoberera obutuukirivu n'ekisa, alifuna obulamu n'ekitiibwa. Omulwanyi ow'amagezi awangula ekibuga ky'ab'amaanyi, N'amenya ebisenge byakyo bye beesiga. Buli eyeegendereza mu by'ayogera, Yeewonya emitawaana. Omuntu ow'amalala eyeegulumiza, ayitibwa munyoomi, Akolera emirimu mu ttitimbuli ery'amalala. Okwegomba okw'omugayaavu kwe ku mutta; Kubanga tayagala kukola mirimu. Olunaku lwonna, omubi yeegomba okubaako ky'afuna; Naye omutuukirivu takodowala, agaba. Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Naddala bwe bagireeta n'ekigendererwa ekitali kirungi, tesinga nnyo okuba ey'omuzizo? Omujulirwa ow'obulimba alizikirizibwa; Naye omuntu awuliriza by'ayogera bikkirizibwa. Omuntu omubi yeekazakaza; Naye omugolokofu yeegendereza amakubo. Tewali magezi na kutegeera, Wadde okuteesa kw'omuntu, ebisinga Mukama. Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo, Naye okuwangula kuva eri Mukama. Okulondawo erinnya eddungi, kusinga bugagga obungi. Okuganja n'okwagalibwa kusinga okuba ne ffeeza ne zaabu. Omugagga n'omwavu balina ekibagatta, Ye Mukama, bonna eyabatonda. Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja, n'akeewala; Naye abatalina magezi bagenda bugenzi ne bakagwamu. Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama. Amaggwa n'emitego, biri mu kkubo ery'omubambaavu: Ayagala okukuuma obulamu bwe, abyewala. Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu. Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola. Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike: N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo. Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye. Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Empaka n'okuswala birikoma. Ayagala omutima omulongoofu, n'okwogera eby'ekisa, afuuka mukwano gwa kabaka. Mukama yeekaliriza okulaba ng'amazima gakuumibwa; Naye azikiriza enkwe z'abalimba. Omugayaavu ayogera nti, “Empologoma eri bweru, Ejja kunzitira mu nguudo.” Akalimi k'omukazi atali wuwo, bunnya buwanvu: Mukama gw'asunguwalidde aligwa omwo. Kya butonde omwana omuto okukola eby'obusirusiru; Naye okubonerezebwa, kubimuggyamu. Anyigiriza omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga, tebalirema kwavuwala. Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi, Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange. Kiba kirungi, singa osobola okubijjukira, Era n'obijulizanga. Njagala oyige okwesiganga Mukama, Kyenvudde mbikumanyisa ggwe leero. Nkuwandiikidde ebigambo asatu (30), Ebirimu okulabula n'okumanya. Okukutegeeza ebituufu era eby'amazima; Olyoke osobole okuddamu abo abaakutuma. Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, Era tonyigirizanga mwavu awasalirwa omusango. Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu. Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi: si kulwa ng'oyiga emize gye, Ate n'olemwa okugivaamu. Tobanga omu ku abo abeeyama, Okusasula amabanja ga balala. Bw'olemwa okugasasula, Batwala n'ekitanda ky'osulako. Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, Bajjajjaabo ke baasimba. Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka; Taliyimirira mu maaso g'abakopi. Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu, Wetegerezanga nnyo ebyo ebiteekeddwa mu maaso go. weefugenga nnyo, Bw'oba nga oli muntu muluvu. Tolulunkaniranga byasava by'agabula; aba ayagala kukugeza alabe bw'ofaanana. Teweekooyanga ng'okolerera obugagga, Beeranga mugezi olemenga okwetawaanya ennyo. Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro, Ng'empungu ne bubuuka mu bbanga. Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi, So tolulunkaniranga byassava bye. Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo: Lya, nywa, bw'akugamba; Naye omutima gwe teguli wamu naawe. Ojja kusesema gy'olidde; N'ebigambo byo ebirungi bijja ku kufa bwereere. Toyogeranga omusiru ng'awulira; Kubanga ajja kunyooma eby'amagezi by'oyogera. Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda; So toyingiranga nnimiro za bamulekwa. Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; Anaawozanga ensonga yaabwe naawe. Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya. Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga okumukubako n'omuggo, tekijja kumutta. Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe. Mwana wange, bw'obeera ow'amagezi, nange nsanyuka. Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, Bw'onooyogeranga eby'ensonga. Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde: Kubanga mazima empeera weeri; N'essuubi lyo teririmalibwawo. Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi, Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo. Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge; Wadde mu abo abeevuubiika ennyama: Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu: N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina. Owuliranga kitaawo eyakuzaala, So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye. Gulanga amazima, so togatundanga; Gulanga amagezi, okuyigirizibwa n'okutegeera. Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo: N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaamwenyumiririzangamu. Osaanye osanyusenga Kitaawo ne nnyoko, Omukazi eyakuzaala ajaganyenga. Mwana wange, mpa omutima gwo, Weetegerezenga amakubo gange. Kubanga omukazi malaaya lukonko luwanvu; N'omukazi omwenzi bunnya bwa kanyigo. Akuteega ng'omunyazi, Aleetera abasajja bangi obutaba beesigwa. Ani alaba obuyinike? Ani alaba ennaku? Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? Ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyuse amaaso? Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge ogwa buli kika. Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, Bwe gukka empola: Enkomerero guluma ng'omusota, Gusonsomola ng'embalasaasa. Ojja kutandika okulaba ebitategeerekeka, Otandike okwogera ebigambo eby'obubambaavu. Oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja, Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti. Olitandika okugamba nti, “Bankubye, ne ssirumwa; Bankubye, ne ssiwulira: Nnaazuukuka ddi, nzireyo ngunoonye nate?” Tokwatirwanga buggya abantu ababi, So teweegombanga kubeera nabo. Kubanga balowooza bya bukambwe, Era boogera bya ttima. Kyetaagisa amagezi okuzimba ennyumba; N'okutegeera kwe kuginyweza: N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa. Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi; Weewaawo, omuntu alina okumanya abeera n'obuyinza. Kubanga okulwana olutalo, kwetaaga okuteesa okw'amagezi; Era awaba abawi b'amagezi abangi, we wabeera emirembe. Amagezi magulumivu nnyo, gasukiridde omusiru, Tayinza kwogerera we basalira emisango. Ateekateeka okukola obubi, Abantu balimuyita omuntu ow'ettima. Okulowooza kw'omusiru kuba kwonoona, Era omunyoomi abantu bamwetamwa. Bw'ozirikira ku lunaku lw'ofuniddeko ebizibu, Amaanyi go gaba matono. Yamba abo abatwalibwa okuttibwa, Obawonye, baleme okutirimbulwa. Bw'onooyogeranga nti, “Ekyo ssaakitegeerako.” Oyo apima ekiri mu mutima takulaba? Oyo akuuma emmeeme yo takumanyi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli? Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi; N'ebisenge byagwo nga bwe bikuwoomera. Manya nti n'amagezi bwe gatyo bwe gawoomera obulamu bwo. Bw'ogafuna, oliba bulungi gye bujja, By'osuubira birituukirira. Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu: Kubanga omuntu omutuukirivu ne bw'agwa emirundi musanvu ayimukawo nate; Naye ababi obuyinike bubasuula. Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga, So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga: Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, N'alekera okumusunguwalira. Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi; Era tobakwatirwanga buggya. Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi; Ettaala y'ababi erizikizibwa. Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka: Era teweetabanga n'abo abaagala okujeema. Kubanga obuyinike bulibajjira nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi bwe kulyenkana? Era na bino byayogerwa abo ab'amagezi. Okusosola mu bantu ng'osala emisango si kirungi. Agamba omubi nti, “ Toliiko musango,” Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamukyawanga. Naye abo abanenya asobeza banaafunanga essanyu, Era banaabeeranga n'omukisa. Okuddamu obulungi, Kabonero k'omukwano. Sooka oteeketeeke bulungi emirimu gyo egy'ebweru, Otereeze bulungi ennimiro yo, Oluvannyuma olyoke ozimbe ennyumba yo. Tolumirizanga munno awatali nsonga: Era toyogeranga bya bulimba. Toyogeranga nti, “Ndimukola nga ye bw'ankoze, Ndisasula omusajja oyo nga bw'ankoze” N'ayita ku nnimiro ey'omugayaavu, Ne mu lusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera; Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omuddo nga guduumuukidde omwo, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lugudde. Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo: Ne mbaako kye njiga nti: Oba oyagala, weebakeko katono, sumagira weebakeko, Zinga emikono, owummuleko! Naye obwavu n'obwetaavu, Birikulumba ng'omunyazi era ng'omusajja akutte eby'okulwanyisa. Era na zino ngero za Sulemaani, abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baawandiika. Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda: Naye okukebera ekigambo kye kitiibwa kya bakabaka. Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi. Ne kabaka by'alowooza bizibu okumanya. Ggyangamu amasengere mu ffeeza, Omuweesi anaakuweesezamu ekintu. Ggyangawo ababi mu maaso ga kabaka, N'entebe ye erinywezebwa mu butuukirivu. Teweekuza mu maaso ga kabaka, Era teweeteekanga mu kifo ky'abakulu. Kiba kirungi okukuyita nti, “Sembera eno,” Okusinga okutoowazibwa mu maaso g'omulangira, Amaaso go gwe galabye. Toyanguyirizanga kuwaaba, Ku nkomerero oyinza okubulwa eky'okwogera, Munno ng'akuswazizza. Wozanga ensonga yo ne munno yennyini, So tobikkulanga kyama kya munno. Akiwulira alemenga okukusunga, N'osigala ng'oswadde. Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye Kiri ng'amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza. Ng'empeta ey'omukutu eya zaabu n'eky'obuyonjo ekya zaabu ennungi, Ow'amagezi anenya bw'abeera bw'atyo eri okutu kw'okugonda. Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu, Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma; Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be, Ng'ebire n'empewo awatali nkuba, Bw'atyo bw'abeera oyo eyeenyumiriza olw'ebirabo bye ng'alimba. Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu, N'olulimi olugonvu lumenya eggumba. Olabye omubisi gw'enjuki? Lyangako ogunaakumala obumazi; Olemenga okugukkuta n'ogusesema. Ekigere kyo tekirinnyanga mirundi mingi mu nnyumba ya munno; Alemenga okukunyiwa n'akukyawa. Omuntu awaayiriza munne Nnyondo n'ekitala n'akasaale ak'obwogi. Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biro eby'okulabiramu ennaku Kuli ng'erinnyo erimenyese n'okugulu okusowose. Okuyimbira omuntu ali mu nnaku, kuba ng'omuntu okweyambulamu engoye, mu budde obw'empewo, Oba okusiiga omunnyo mu kiwundu. Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga emmere ey'okulya; Era bw'alumwanga ennyonta omuwanga amazzi okunywa: Kubanga olikuma amanda ag'omuliro ku mutwe gwe, Era Mukama alikuwa empeera. Okugeya kuleeta obusungu, Ng'embuyaga ez'obukiikakkono, bwe zireeta enkuba. Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, N'otaba na mukazi muyombi mu nnyumba engazi. Okuwulira amawulire amalungi agava mu nsi ey'ewala, Kuli ng'okunywa amazzi amannyogovu ng'obadde olumwa ennyonta. Ng'oluzzi olutabanguse, n'ensulo eyonoonese, Omuntu omutuukirivu bw'abeera bw'atyo bweyekkiriranya n'omubi. Nga bwe kitali kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi: Bwe kityo bwe kiri, omuntu okunoonya ekitiibwa. Omuntu atasobola kweziyiza; Ali ng'ekibuga ekirumbiddwa nga tekiriiko bbugwe. Ng'omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng'enkuba mu biro eby'okukunguliramu, N'ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru. Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa. Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi, N'omuggo gusaanira mabega ga basirusiru. Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Era naawe olemenga okumufaanana. Oddangamu omusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okulowooza nti wa magezi. Atuma omusiru okutwala obubaka, Aba ng'eyeesalako ebigere, era yeereetera mitawaana. Omusiru okukozesa olugero olw'amakulu, Kiri ng'omulema okukozesa, Amagulu ge agaleebeeta obuleebeesi. Ng'ensawo erimu amayinja ag'omuwendo omungi eri mu kifunvu eky'amayinja, Bw'atyo bw'abeera oyo assaamu ekitiibwa omusiru. Omusiru okukozesa olugero olw'amakulu, Kiri ng'omutamiivu okugezaako okwetundula eriggwa mu kibatu kye. Ateekawo omusiru okumukolera omulimu, Oba buli muyise gw'asanze obusanzi, Aba ng'omulasi w'obusaale, alasa buli muntu. Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe. Olaba omuntu eyeeyita omugezi mu kulowooza kwe ye? Omusiru amusinga. Omugayaavu ayogera nti, “Waliwo empologoma mu kkubo, Empologoma eri mu nguudo.” Ng'oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye. Omugayaavu akoza emmere mu kibya; Ne kimukooya okugiteeka mu kamwa. Omugayaavu alowooza nti mugezi okusinga abantu omusanvu, Aboogera batereeza ensonga. Omuntu ayitawo ne yeeyingiza mu mpaka ezitamukwatako, Aliŋŋaanga akwata ku matu g'embwa gy'atamanyi; Ali ng'omulalu akasuka amanda agaaka omuliro, Oba obusaale n'ebissi ebirala. N'oyo omuntu alimba munne, N'agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi,” bw'atyo bw'aba. Ng'okumalawo enku bwe kuzikiza omuliro, N'omugeyi bw'avaawo, okuyomba kuggwaawo. Ng'amanda n'enku ebyongerwa mu kyoto, bwe bikoleeza omuliro, Omuntu omuyombi bw'akoleeza bw'atyo oluyombo. Ebigambo by'ow'olugambo biwooma Ng'emmere ekka mu lubuto. Ebigambo ebiwoomerevu ebiva mu mutima omubi Biri ng'ekintu eky'ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza. Omuntu alina obukyayi akuusakuusa mu bigambo bye, Atereka obubi mu mutima gwe. Bw'ayogeranga eky'okwegonza, tomukkirizanga: Kubanga mu mutima gwe mulimu eby'emizizo musanvu: Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa, Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g'ekibiina. Buli asima obunnya, aligwa omwo: N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye. Omulimba akyawa abo baalimba; N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira. Teweenyumirizanga lwa bya nkya; Kubanga tomanyi bwe binaaba ku lunaku olwo. Leka omulala akutenderezenga, Oba omugenyi, so si ggwe kwetendereza. Ejjinja lizitowa, n'omusenyu muzito; Naye emitawaana egireetebwa omusiru, gibisinga byombi obuzito. Obusungu bukambwe, n'ekiruyi kizikiriza; Naye tebyenkana buggya. Akubuulira ensobi yo mu lwatu Akira agikukweka ng'ayagala okukulaga nti akwagala. Weesige mukwano gwo akunenya, Naye sso si mulabe wo akuwaana. Emmeeme ekkuse etamwa omubisi gw'enjuki: Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu. Ng'ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo, Bw'atyo bw'abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye. Amafuta ag'omugavu n'eby'akaloosa bisanyusa omutima: Obuwoomerevu bw'omukwano gw'omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okwo mu mwoyo gwe. Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala. Mwana wange, beeranga n'amagezi onsanyusenga; Ndyokenga nfune kye nziramu oyo anvuma. Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja n'akeewala; Naye atalina magezi, akatambaala, ate neyejjusa oluvannyuma. Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi. Azuukuka ku makya ennyo n'aleekaana okulamusa munne, Abalwa ng'amukolimira. Omukazi omuyombi, Alinga enkuba ennyingi, etonnya nga tekya. Okumuziyiza kuba nga kuziyiza mpewo ekunta; Oba kiringa okukwata amafuta, mu mukono. Ng'ekyuma bwe kiwagala kinnaakyo, Bw'atyo n'omuntu bw'ayigiriza muntu munne. Buli alabirira omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we, anaassibwangamu ekitiibwa. Ng'omuntu bwe yeeraba ng'atunudde mu mazzi, Bwe gutyo omutima gwe bwe gumwoleka bw'ali. Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna. Entamu erongoosa ya ffeeza n'ekikoomi kya zaabu, N'omuntu akemebwa lwa kumutendereza. Omusiru ne bw'omukuba okujula okumutta obussi, Obusiru bwe tebumuvaako. Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri, Okeberanga nnyo ente zo: Kubanga obugagga si bwa lubeerera; Era engule tesikirwa mirembe gyonna. Omuddo bwe gukala, n'omulala ne gumera, N'ogw'okunsozi ne gukuŋŋaanyizibwa, Lw'olyekolera eby'okwambala, mu byoya by'endiga zo; N'otunda ne ku mbuzi zo, ne weegulira ebibanja. Onoofunanga amata agakumala ggwe n'ab'omu nnyumba yo, Ne ganywebwako n'abakozi bo. Ababi badduka nga tewali muntu abagoba; Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng'empologoma. Ensi etegwamu butabanguko ebaamu abafuzi bangi; Naye bwe beeramu abantu abalina okutegeera n'okumanya etebenkera. Omuntu anyigiriza abaavu, Alinga enkuba esaanyaawo mmere yonna. Abo abatakwata mateeka bawagira ababi: Naye abo abagakwata babalwanyisa. Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna. Omwavu atatambulira mu bukuusa, Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga. Omwana akwata amateeka wa magezi; Naye aba mukwano gw'abantu abaluvu aswaza kitaawe. Eyeegaggawaza ng'aseera afune amagoba, Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu. Agaana okuwulira amateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo. Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abaatuukirira balisikira ebirungi. Omugagga alowooza nti wa magezi; Naye omwavu alina okutegeera amukebera. Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo ekitiibwa ekinene: Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka. Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa. Alina omukisa omuntu atya Mukama mu biro byonna. Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi. Ng'empologoma ewuluguma n'eddubu eryetala okutaagula; Bw'abeera bw'atyo omufuzi omubi afuga abantu abaavu. Omufuzi atalina kutegeera aba mukambwe nnyo; Naye oyo akyawa obulyake, anaalwanga ku bufuzi. Omuntu omutemu Asaana kubungeeta okutuusa lwalifa; era walemenga kubaawo muntu amuyamba. Buli atambulira mu bugolokofu aliwonyezebwa; Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago. Omulimi omunyiikivu, aliba n'emmere nnyingi; Naye ayita n'abagayaavu, anaabeeranga mwavu. Omuntu omwesigwa alifuna emikisa; Naye abuguutanira okugaggawala talirema kubonerezebwa. Okusosola mu bantu si kulungi: Naye abantu bakola ebibi olw'okufuna ke banaalya. Alina eriiso ebbi abuguutanira okugaggawala, Sso n'atamanya nti obwetaavu bulimutuukako. Agolola munne ensobi, oluvannyuma aliganja, Okusinga oyo amuwaanawaana. Buli anyaga kitaawe oba nnyina n'ayogera nti Si musango; Afaanana n'omutemu. Ow'omwoyo ogw'omululu aleeta oluyombo: Naye eyeesiga Mukama anaabanga n'omukisa. Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru Naye atambula n'amagezi y'aliwonyezebwa. Agabira omwavu teyeetaagenga: Naye oyo abalaba n'atabafaako, alikolimirwa bangi. Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka: Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera. Omuntu bw'anenyezebwa emirundi emingi n'akakanyalira mu nsobi ye; Alimenyeka nga tamanyiridde nga takyayinza kuwonyezebwa. Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka: Naye omuntu omubi bw'afuga, abantu basinda. Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe: Naye oyo abeera n'abakazi abenzi amalawo ebintu bye. Kabaka anyweza ensi lwa bwenkanya; Naye asaba enguzi agisuula. Omuntu awaanawaana munne Aba amutega kitimba. Omuntu omubi, akwatirwa mu nsobi ze; Naye omutuukirivu asanyuka n'ayimba. Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey'abaavu: Naye omubi talina kutegeera okugimanya. Abantu abanyooma basasamaza ekibuga: Naye abantu ab'amagezi bakkakkanya obusungu. Omuntu ow'amagezi bw'awakana n'omusiru, Omusiru ne bw'asunguwala oba ne bw'aseka, tewaba mirembe. Abantu abatemu, bakyawa atalina musango; Naye omutuukirivu afuba okutaasa obulamu bwe. Omusiru alaga obusungu bwe bwonna; Naye omuntu ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya. Omufuzi bw'awuliriza eby'obulimba, Abakungu be bonna baba babi. Omwavu n'omujoozi balina ekibagatta: Bombi Mukama y'abawa ekitangaala ne balaba. Kabaka asalira abaavu emisango mu bwenkanya, Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna. Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana alekebwa awo, aswaza nnyina. Ababi bwe baba mu buyinza, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe. Kangavvulanga omwana wo, anaakuleeteranga okuwulira essanyu, Weewaawo, anaakweyagazanga. Awatali kwolesebwa, abantu tebaba na kuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa. Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo, Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo. Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusiru wandibaako k'omusuubiramu. Alera omuddu we nga yeegendereza okuva mu buto, Alimufuukira omwana ku nkomerero. Omuntu ow'obusungu awakula ennyombo, N'ow'ekiruyi agwa mu nsobi nnyingi. Amalala g'omuntu galimusuula, Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa. Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Ne bwawulira ekikolimo, takwekula mazima. Oyo atya obuti abantu, yeesuula mu kabi; Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe. Bangi abaagala okuganja eri omukulu: Naye obwenkanya buva eri Mukama. Omuntu omubi akyayibwa abatuukirivu: N'oyo akwata ekkubo eggolokofu akyayibwa ababi. Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; bye yayogera. Omusajja agamba Isyeri ne Ukali; Nti Mazima ndi muntu asingayo obusiru, So sirina kutegeera kwa muntu: So siyiganga magezi, So sirina kumanya kw'oyo Omutukuvu. Ani eyali alinnye mu ggulu ate n'avaayo n'akka? Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez'ensi Erinnya lye y'ani, n'omwana we erinnya lye y'ani, oba ng'omanyi? Buli kigambo kya Katonda kituukirizibwa, Aba ngabo eri abo abamwesiga. Toyongeranga ku bigambo bye, Aleme okukunenyanga naawe n'olabika ng'omulimba. Nkusabye ebigambo bibiri; Obimpe nga sinnafa: Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Naye ompenga emmere gye nneetaaga. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama y'ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne nvumaganya erinnya lyo, ayi Katonda wange. Towaayirizanga muddu eri mukama we, Alemenga okukukolimira naawe n'olowoozebwa ng'ozizza omusango. Waliwo abantu abakolimira bakitaabwe, So tebasabira bannyaabwe mukisa. Waliwo abantu abalowooza nti balongoofu; Era naye nga tebanaazibwangako bibi byabwe. Waliwo abantu, abalowooza nti bo ba waggulu nnyo, Era ne balowooza nti be basinga abalala bonna. Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu. Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo: Amagombe; n'olubuto olugumba; N'ensi enkalu; N'omuliro ogutayogera nti Lekera awo. Amaaso g'oyo anyooma kitaawe, N'agooyo agaana okuwulira nnyina, Gasaanye gaggyibwemu bi Nnamuŋŋoona eby'omu kiwonvu, Era gabojjogolwe ensega. Waliwo ebigambo bisatu eby'ekitalo ebyannema okutegeera, Weewaawo, biri bina bye ssimanyi: Ekkubo ery'empungu mu bbanga; Ekkubo ery'omusota ku lwazi; Ekkubo ery'eryato wakati mu nnyanja; Omukwano gw'omusajja n'omuwala. Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery'omukazi omwenzi; Olumala okwenda, anaaba neyewoomya, Olwo n'agamba nti, “Siriiko kibi kye nkoze.” Ensi ekankanira ebigambo bisatu, Era ebina by'eteyinza kugumiikiriza: Omuddu bw'aba kabaka; N'omusiru bw'akkuta emmere; Omukazi omugwagwa bw'afumbirwa; N'omuzaana asikira mugole we. Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi, Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini: Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi, Naye byeterekera emmere yabyo mu kyeya. Obumyu busolo bunafu, Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja. Enzige tezirina kabaka, Naye zibuukira mu bibinja. Omunya gukwata n'engalo zaagwo, Naye gubeera mu mbiri za bakabaka. Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo, Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda: Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi, So tewali gy'esegulira yonna; Embwa enjizzi; era n'embuzi ennume; Ne kabaka ali n'eggye lye. Oba ng'okoze eby'obusirusiru nga weegulumiza, Oba ng'olowoozezza obubi, Osirikanga n'olowooza; Kubanga okusunda amata nga bwe kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo nga bwe kuleeta omusaayi: N'okusitula obusungu, bwe kutyo kuleeta oluyombo. Ebigambo bya kabaka Lemweri; nnyina bye yamuyigiriza. Kiki, mwana wange? Era kiki, ayi mwana w'olubuto lwange? Era kiki, ayi mwana w'obweyamo bwange? Amaanyi go, togamaliranga ku bakazi; Newakubadde amakubo go kubanga bazikiriza ne bakabaka. Si kwa bakabaka, ayi Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So si kwa balangira okunoonyanga ekitamiiza. Balemenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne basaliriza abantu abanyigirizibwa. Mumuwenga ekitamiiza oyo ayagala okufa, N'omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike: Anywenga yeerabirenga obwavu bwe, Alemenga okujjukira nate ennaku ye. Yogereranga abatalina bwogerero, Olwanirirenga abataliiko mwasirizi. Yogeranga, osalenga emisango mu bwenkanya, Olwanirirenga abaavu n'abali mu bwetaavu. Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusingira wala amayinja ag'omuwendo ennyo. Omutima gwa bba gumwesiga, Era aba wa mugaso gy'ali. Ayisa bulungi bba, Ennaku zonna ez'obulamu bwe. Anoonya ebyoya by'endiga ne ppamba, N'akola emirimu n'engalo ze n'essanyu. Ali ng'amaato ag'abasuubuzi; Emmere ye agiggya wala. Era agolokoka ku makya nga tebunnalaba, N'awa ab'omu nnyumba ye eby'okulya, N'agabira abawala be emirimu gyabwe. Alowooza ennimiro n'agigula: Asimba olusuku olw'emizabbibu n'emikono gye. Anyiikira okukola n'amaanyi, Ng'akozesa emikono gye. Alaba omugaso gw'ebyo by'akola, Ettaala ye tezikira kiro. Yeerangira ewuzi ze, ye yennyini n'aluka engoye ze. Wa kisa eri abaavu, Era ayamba abali mu bwetaavu. Obudde obunnyogovu tabutya, Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna abambaza ne babuguma. Yeetungira engoye ennungi; Ayambala ziri ezinnyirira eza siriki. Bba amanyibwa mu miryango, Bw'atuula mu bakadde ab'ensi. Atunga ebyambalo ebya bafuta n'abitunda; Akola n'enkoba n'aziguza omusuubuzi azeetaaga. Wa maanyi era wa kitiibwa, Teyeralikirira biseera bya mu maaso. Ayogera n'amagezi; Era ayigiriza n'ekisa. Alabirira nnyo empisa ez'ab'omu nnyumba ye, Era si mugayaavu. Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa; Ne bba, n'amutendereza ng'ayogera nti, Abakazi bangi abakola eby'okwegendereza, Naye ggwe obasinga bonna. Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa; Naye omukazi atya Mukama y'anaatenderezebwanga. Mumuwenga kw'ebyo by'akoleredde; Atenderezebwenga mu miryango. Ebigambo eby'Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi. Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu. Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba? Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala ne gijja; naye ensi ebeerera awo ennaku zonna. Enjuba evaayo, era n'egwa, ate n'eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy'eva. Empewo ekunta ng'edda e bukiikaddyo, ate n'ekyukira e bukiikakkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n'edda nate mu kwetooloola kwayo. Emigga gyonna giyiwa mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigiyiwa era eyo gye gyongera okuyiwa. Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu bwatayinza kwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira. Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwa kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba. Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti, “ Laba! Kino kiggya?” Kyamala dda okubaawo mu mirembe egyatusooka. Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvannyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo. Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi. Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya olw'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu; bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'abantu okubaluma. Nnalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo. Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa, n'ekyo ekitatuuka tekibalika. Nnateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti, “Laba, nneefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi; weewaawo, omutima gwange gwafuna nnyo amagezi n'okumanya.” Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru; nnalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo. Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi; n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku. Nnayogera mu mutima gwange nti, “Kale nno, naakukeema n'ebinyumu; kale beera n'essanyu.” Era, laba, n'ekyo nga bwe butaliimu. Nnayogera ku nseko nti, “Ziraluse,” ne ku binyumu nti, “Bikola ki?” Nnanoonya mu mutima gwange bwe mba nsanyusa omubiri gwange n'omwenge, era omutima gwange nga gukyannuŋŋamya n'amagezi, okulaba bwe mba nnyweza obusirusiru, ndyoke ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eggulu ennaku zonna ez'obulamu bwabwe. Nneekolera emirimu eminene, nneezimbira ennyumba; nneesimbira ensuku ez'emizabbibu; nneekolera ensuku n'ennimiro, ne nsimba omwo emiti egy'ebibala eby'engeri zonna. Nneesimira ebidiba eby'amazzi, okugafukiriza ekibira emiti mwe gyasimbwa. Nnagula abaddu n'abazaana, ne nzaalirwa abaddu mu nnyumba yange, era nnalina obugagga bungi obw'ente n'embuzi, okusinga abo bonna abansooka mu Yerusaalemi. Nneekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n'obugagga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza; nneefunira abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, n'abazaana bangi nnyo. Kale ne mba mukulu, ne nneeyongera okusinga bonna abansooka mu Yerusaalemi; era amagezi gange ne gabeera nange. Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga ssaakigamma; ssaaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna. Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba. Awo ne nkyuka okulaba amagezi n'eddalu n'obusirusiru; kubanga omuntu addirira kabaka ayinza kukola ki? Ayinza kukola ekyo ekyakolebwa edda. Awo ne ndaba ng'amagezi gasinga obusirusiru obulungi, era ng'omusana bwe gusinga ekizikiza. Omugezigezi amaaso ge gaba ku mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza; era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu ekibatuukako. Awo ne ŋŋamba mu mutima gwange nti, “Ekituuka ku musirusiru era kye kirituuka ku nze nange; kale musinga mu ki amagezi?” Kale ne njogera mu mutima gwange nga n'ekyo butaliimu. Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru bwatyo tajjukirwa emirembe gyonna; kubanga mu biro ebigenda okujja byonna biriba nga byamala dda okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwenkana n'omusirusiru! Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'enjuba gyantama; kubanga byonna butaliimu na kugoberera mpewo. Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba, kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra. Era ani amanyi oba ng'aliba mugezigezi oba musirusiru? Naye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, era kwe nnayolesezaamu amagezi gange wansi w'enjuba. Era n'ekyo butaliimu. Kye nnava nkyuka omutima gwange ne guggwaamu essuubi ery'okutegana kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba. Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabi kanene. Kubanga omuntu afuna ki olw'okutegana kwe kwonna n'olw'okufuba kw'omutima gwe kw'ategana wansi w'enjuba? Kubanga ennaku ze zonna buyinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; weewaawo, ne mu kiro omutima gwe tegubaako bwe guwummula. Era n'ekyo butaliimu. Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi ebiva mu kutegana kwe. Era n'ekyo nnakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda. Kubanga ani ayinza okulya, oba ani ayinza okuba n'essanyu okukira nze? Kubanga omuntu asanyusa Katonda; Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu; naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w'eggulu kiriko ekiseera kyakyo. Ekiseera eky'okuzaalirwamu, n'ekiseera eky'okufiiramu; ekiseera eky'okusimbiramu, n'ekiseera eky'okusimbuliramu ekyo ekyasimbibwa. Ekiseera eky'okuttiramu, n'ekiseera eky'okuwonyezaamu; ekiseera eky'okwabizaamu, n'ekiseera eky'okuzimbiramu, Ekiseera eky'okukaabiramu amaziga, n'ekiseera eky'okusekeramu; ekiseera eky'okuwuubaaliramu, n'ekiseera eky'okuziniramu. Ekiseera eky'okusuuliramu amayinja, n'ekiseera eky'okukuŋŋaanyizaamu amayinja; ekiseera eky'okugwiramu mu kifuba, n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifuba. Ekiseera eky'okunoonyezaamu, n'ekiseera eky'okubuulirirwamu; ekiseera eky'okukuumiramu, n'ekiseera eky'okusuuliramu. Ekiseera eky'okuyulizaamu, n'ekiseera eky'okutungiramu; ekiseera eky'okusirikiramu, n'ekiseera eky'okwogereramu, Ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'okulwaniramu, n'ekiseera eky'okutabaganiramu. Magoba ki g'afuna oyo akola emirimu mu ekyo mw'ateganira? Nnalaba okutegana Katonda kwe yawa abaana b'abantu okubateganya. Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo; era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw'atyo omuntu n'okuyinza n'atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero. Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n'okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu. Era buli muntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda. Mmanyi nga buli Katonda ky'akola kinaabanga kya lubeerera; tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newakubadde okukisalibwako; era Katonda kyeyava akikola abantu balyoke batye mu maaso ge. Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n'ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda anoonya nate ekyo ekyayitawo. Era nate nnalaba wansi w'enjuba nga obubi buli mu kifo eky'okusaliramu emisango; ne mu kifo eky'obutuukirivu ng'obubi bwali omwo. Ne njogera mu mutima gwange nti Katonda ye alisala emisango gy'omutuukirivu n'egy'omubi, kubanga eyo eriyo ekiseera eky'ekigambo kyonna n'omulimu gwonna. Ne njogera mu mutima gwange nti Kiba bwe kityo olw'abaana b'abantu Katonda alyoke abakeme, balabe nga bo bennyini bali ng'ensolo obusolo. Kubanga ekyo ekituuka ku baana b'abantu kye kituuka ne ku nsolo; ekigambo kimu ekibatuukako; ng'ensolo bw'efa, n'omuntu bw'afa bw'atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo; kubanga byonna butaliimu. Bonna bagenda mu kifo kimu; era bonna badda mu nfuufu, era byombi bidda mu nfuufu nate. Ani amanyi omwoyo gw'abantu oba nga gulinnya mu ggulu, era oba ng'omwoyo gw'ensolo gukka wansi mu ttaka? Kyennava ndaba nga tewali kintu kisinga kino obulungi, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo gwe mugabo gwe: kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo oluvannyuma lwe? Awo ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w'enjuba; era, laba, amaziga g'abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoozi baabwe, era nga abajoogebwa tebalina abasanyusa. Kye nnava ntendereza abafu abaamala okufa okusinga abalamu abakyalaba; weewaawo, ne ndowooza okusinga bombi oyo atannabaawo, atalabanga mulimu mubi ogukolebwa wansi w'enjuba. Awo ne ndyoka ndaba okutegana kwonna na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa munne obuggya. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. Omusirusiru afunya emikono gye, era n'alya omubiri gwe ye. Olubatu olumu wamu n'okutereera lusinga embatu ebbiri wamu n'okutegana n'okugoberera empewo. Awo ne nzirayo ne ndaba obutaliimu wansi w'enjuba. Wabaawo omuntu ali omu, nga talina wa kubiri; weewaawo, talina mwana newakubadde ow'oluganda, naye okutegana kwe kwonna tekuliiko we kukoma, so n'amaaso ge tegakkuta bugagga. “Kale nteganira ani,” bw'ayogera, “ne nnyima emmeeme yange ebirungi?” Era n'ekyo butaliimu, weewaawo, kwe kweraliikirira okungi. Babiri basinga omu; kubanga baba n'empeera ennungi olw'okutegana kwabwe. Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne; naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa. Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma; naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka? Era newakubadde omuntu asobola okusinga oyo ali yekka, naye ababiri be bamusobola. Omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka. Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyagala kubuulirirwa. Newakubadde nga yava mu kkomera okuba kabaka; weewaawo, oba mu bwakabaka bwe yazaalibwa nga mwavu. Nnalaba abalamu bonna abatambulira wansi w'enjuba, nga baali wamu n'omulenzi, ow'okubiri, eyayimirira mu kifo kye. Abantu bonna tebaaliko gye bakoma, abo bonna be yakulira. Abo abalibaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. Okuumanga ekigere kyo bw'ogendanga mu nnyumba ya Katonda; kubanga okusembera okuwulira kusinga okuwaayo ssaddaaka ey'abasirusiru; kubanga tebamanyi nga bakola bubi. Akamwa ko tekanguyirizanga, so n'omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyonna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono. Kubanga ekirooto kijjira wamu n'olufulube lw'emirimu emingi; n'eddoboozi ly'omusirusiru lijjira wamu n'olufulube lw'ebigambo. Bw'oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama. Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n'olema okusasula. Toganyanga kamwa ko okwonoonyesa omubiri gwo; so toyogereranga mu maaso ga mubaka nti kwali kusobya; Katonda kiki ekinaaba kimusunguwaliza eddoboozi lyo, n'azikiriza omulimu ogw'emikono gyo? Kubanga bwe kituukirira bwe kityo olw'olufulube lw'ebirooto n'obutaliimu n'ebigambo ebingi, naye ggwe otyanga Katonda. Bw'onoolabanga abaavu nga babajooga, era nga banyigirizibwa, era nga tebakolerwa bya bwenkanya na mazima mu ggwanga, teweewuunyanga kigambo ekyo; kubanga asinga abagulumivu obugulumivu assaayo omwoyo; era waliwo abasinga bo obugulumivu. Nate ekyengera eky'ettaka kiba kya bonna, kabaka yennyini ennimiro emuweereza. Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n'oyo ayagala obugagga, n'amagoba g'abwo taabikutenga: era n'ekyo butaliimu. Ebintu bwe byeyongera, n'abo ababirya ne beeyongera; kale magoba ki nannyini byo g'afuna, wabula okubiraba obulabi n'amaaso ge? Otulo otw'omukozi w'emirimu tumuwoomera, ne bw'aba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw'omugagga tegumuganya kwebaka. Waliwo ekibi ekinene kye nnalaba wansi w'eggulu, kye kino, obugagga nnyini bwo bw'akuuma ate ne yeerumya yekka, obugagga obwo ne buzikirira olw'ebigambo ebibi ebiggwaawo; era bw'aba ng'azadde omwana, n'aba nga takyalina kintu mu mukono gwe. Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'ayinza okutwala mu mukono gwe. Era n'ekyo kibi kinene, era nga bwe yajja bw'atyo bw'aligenda, era magoba ki g'alina n'okutegana n'ateganira empewo? Era ennaku ze zonna aliira mu kizikiza, era nga yeeraliikirira nnyo, era abaako endwadde n'obusungu. Laba, ekyo kye nnalaba era nga kye kirungi ekisaana kye kino, omuntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi ebiva mu kutegana kwe kwonna kw'ategana wansi w'enjuba ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bwe yamuwa; kubanga ogwo gwe mugabo gwe. Era buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, era ng'amuwadde n'obuyinza okubiryangako n'okuddiranga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda. Kubanga talijjukira nnyo ennaku ez'obulamu bwe; kubanga Katonda amuddamu olw'okusanyuka kw'omutima gwe. Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, era kizitoowerera abantu; omuntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi. Omuntu bw'azaala abaana kikumi (100), n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo. Kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza; wabula newakubadde aba talabye njuba era nga tagitegedde; ono ye aba n'okuwummula okusinga oli. Weewaawo, newakubadde ng'awangaala emyaka lukumi (1,000) emirundi ebiri, naye n'atasanyukira birungi, bonna tebadda mu kifo kimu? Okutegana kwonna okw'omuntu kuba kw'akamwa ke, wabula okwegomba kwe tekukkuta. Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? Oba omwavu amanyi okutambulira mu maaso g'abalamu alina ki? Okulaba n'amaaso kwe kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba; era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. Buli ekyabaawo, erinnya lyakyo lyatuumibwa dda, era kimanyibwa nga muntu, so omuntu tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi. Kubanga waliwo ebintu bingi ebyogera ku butaliimu, kale omuntu yeeyongera atya okugasa? Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabangawo oluvannyuma lwe wansi w'enjuba? Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu. Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga; kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; era n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe. Ennaku zisinga enseko; kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busanyusa omutima. Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu. Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru. Kubanga amaggwa nga bwegatulikira wansi w'entamu, n'enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo; era n'ezo butaliimu. Mazima okunyigiriza kufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera. Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo; alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala. Toyanguyirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala, kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru. Toyogeranga nti, “Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zino?” Kubanga ekyo si kibuuzo kya magezi. Amagezi genkana obulungi obusika, weewaawo, gabagasa bonna abalaba enjuba. Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo, naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go. Lowooza omulimu gwa Katonda; kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola? Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ne ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; Katonda yaliraanya olwo na luli, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna ekiribaawo oluvannyuma lwe. Ebyo byonna nnabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange; waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi n'awangaalira mu kukola kwe obubi. Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi; lwaki ggwe okwezikiriza wekka? Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru, lwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka? Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo; kubanga atya Katonda anaavanga mu ebyo byonna. Amagezi gawa amaanyi omugezigezi okusinga abafuzi kkumi (10) abali mu kibuga. Mazima tewali mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n'atayonoona. Era tossaayo mwoyo ku bigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira; kubanga emirundi mingi omutima gwo; gumanyi nga naawe bw'otyo bw'okolimira abalala. Ebyo byonna nnabigezesa n'amagezi gange; era nnayogera nti, “Ndiba mugezigezi;” naye amagezi ne gambeera wala. Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebera? N'akyuka, omutima gwange ne ngumalira ku kumanyanga, n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo, era n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, ate ng'obusirusiru ddalu. Era ne ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi; omutima gwe byambika n'ebitimba, n'emikono gye giri ng'enjegere; wabula buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye. Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga, emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba. Omusajja omu mu lukumi (1,000) gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna ssaalabayo n'omu. Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja. Ani ali ng'omuntu omugezigezi? Era ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa. Nkukuutira ebigambo bino, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola bw'otyo olw'ekirayiro kya Katonda. Toyanguyirizanga kuva w'ali; tolemeranga mu kigambo ekibi; kubanga akola buli ky'ayagala. Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era ani ayinza okumugamba nti, “Okola ki?” Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'omuntu omugezigezi gumanya ekiseera n'okuteesa. Kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo. Kubanga tamanyi ekiribaawo, kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba? Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa, so n'obubi tebulimuwonya oyo abugoberera. Ebyo byonna nnabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba, wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi. Era nate nnalaba ababi nga babaziika mu ntaana; so nga bagendanga emirundi mingi era bava mu kifo ekitukuvu, baatenderezebwanga mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga obubi; baziikibwa mu kitiibwa naye ne beerabirwa mu kibuga, era n'ekyo butaliimu. Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu gweyongerera ddala mu bo okukola obubi. Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kikumi (100) n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda, banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge; naye omubi taabenga bulungi, so taliwangaala nnaku nnyingi eziri ng'ekisiikirize; kubanga tatya mu maaso Katonda. Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'ababi; naye era waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'abatuukirivu. Ne njogera nti n'ekyo butaliimu. Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga; kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba. Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi, nnazuula nti waliwo abantu abaatafuna tulo mu maaso gabwe emisana n'ekiro. Awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda, omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba. Kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba. Kubanga ebyo byonna n'abiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda; oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi, byonna ebiri mu maaso gaabwe butaliimu. Olw'okubanga byonna byenkana ebijjira bonna, waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri atali mulungi, eri omulongoofu n'atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka. Nga omulungi bw'ali, n'alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro. Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna; weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu bonna gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu. Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu, oyo aba n'essuubi, kubanga era n'embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi. Kubanga abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi, era tebakyalinayo mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa. Okwagala kwabwe, n'okukyawa kwabwe, n'obuggya bwabwe byonna bizikiridde, so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba. Genda, olyenga emmere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo n'omutima ogujaguza; kubanga Katonda amaze okukkiriza emirimu gyo. Ebyambalo byo bitukulenga ennaku zonna; so n'omutwe gwo tegubulwanga mafuta. Beeranga n'omukazi gw'oyagala n'essanyu ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwadde wansi w'enjuba, ennaku zo zonna ezitaliimu; kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu, ne mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'enjuba. Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n'amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy'ogenda. Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba nga ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n'ebigambo. Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye. Nga ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde. Era nnalaba amagezi wansi w'enjuba bwe ntyo, ne gafaanana nga mangi gye ndi. Waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo nga si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako enkomera ennene. Awo ne walabika mu kibuga omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu. Kale ne njogera nti, Amagezi gasinga amaanyi obulungi, era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira. Ebigambo eby'abagezigezi ebyogerwa akasirise babiwulira okusinga okuleekaana kw'oyo afugira mu basirusiru. Amagezi gasinga eby'okulwanyisa, naye alina ebibi omu azikiriza ebirungi bingi. Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa; bwe kityo n'obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa. Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono. Era, weewaawo, omusirusiru ne bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwako, n'agamba buli muntu nga bwali omusirusiru. Omukulu akufuga bw'akusunguwaliranga, tovanga mu kifo kyo; kubanga okumenyeka kukkakkanya okunyiiga okungi. Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, kwe kusobya okuva eri omukulu; obusirusiru nga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi. Nnalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka. Asima obunnya alibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimubojja. Buli asimula amayinja galimusala; n'oyo ayasa enku zirimuleetera akabi. Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera amaanyi ng'okikozesa; naye amagezi gasobozesa omuntu okuwangula. Omusota bwe gumala okubojja, oyo aloga emisota ne gitabojja, aba takyagasa. Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimumira ye yennyini. Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru, n'enkomerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi. Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo, naye omuntu tamanyi ebiribaawo; era ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okubimubuulira? Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga. Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, ate abakulu bo ne balya enkya! Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo ne baliira mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira! Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya. Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu, naye effeeza eyanukulira byonna. Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula, kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo. Suulanga emmere yo ku mazzi; kubanga oligiraba ennaku nnyingi nga ziyiseewo. Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi. Ebire bwe bijjula enkuba, olwo neyiika ku nsi; n'omuti bwe gugwa okwolekera obukiikaddyo oba obukiikakkono, mu kifo omuti we gugwa we gulibeera. Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo atunuulira ebire talikungula. Nga bw'otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna. Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo; kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi. Mazima omusana guwooma, era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba. Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu. Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go; naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna. Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo; kubanga obuto n'obuvubuka butaliimu. Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti, “Sigisanyukira n'akamu.” Enjuba n'omusana n'omwezi n'emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne bikomawo enkuba ng'emaze okutonnya. Ku lunaku abakuumi b'ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab'amaanyi ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa, enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa. Weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n'ejjanzi lirizitowa, ne ppirippiri aliggwaawo; kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo. Omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi, ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba; enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba. Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu. Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi. Omubuulizi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n'ebyo ebyawandiikibwa n'obugolokofu, bye bigambo eby'amazima. Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu. Era nate, mwana wange, labuka, okuwandiika ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri. Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa, otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu. Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi. Oluyimba olusinga ennyimba, lwe luyimba lwa Sulemaani. Annywegere n'okunywegera kw'akamwa ke. Kubanga okwagala kwo kusinga omwenge obulungi. Amafuta go gawunya akaloosa; Erinnya lyo liriŋŋaanga amafuta agafukibwa; Abawala abatamanyi musajja kyebaava bakwagala. Mpalula, tunaakugoberera mbiro. Kabaka annyingizizza mu bisenge bye. Tunaakusanyukira ne tujaguliza mu ggwe, Okwagala kwo tunaakutendereza okusinga omwenge; Bakwagala lwa nsonga. Ndi muddugavu, naye mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi, Ng'eweema ez'e Kedali. Ng'entimbe z'omu lubiri lwa Sulemaani. Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu. Kubanga omusana gunjokezza. Abaana ba mmange bansuguwalira, Banfuula omukuumi w'ensuku ez'emizabbibu; Naye olusuku lwange nze ssaalukuuma. Mbuulira, ggwe emmeeme yange gw'eyagala, Gy'oliisiza ekisibo kyo, gy'okigalamiriza mu ttuntu; Kubanga nandibeeredde ki ng'omukazi ayambadde ekibikka, Awali ebisibo bya banno? Oba nga tomanyi, ggwe asinga abakazi bonna obulungi, Fuluma okwate ekkubo ogoberere ebigere by'endiga zo, Oliisize abaana b'embuzi zo awali eweema ez'abasumba. Nkugeerageeranya, ayi muganzi wange, Ku mbalaasi ez'amagaali ga Falaawo. Amatama go ganyiridde n'emivumbo emirange, Ensingo yo nnungi n'embu ez'eby'obuyonjo. Tunaakukolera emivumbo egya zaabu N'amapeesa aga ffeeza. Kabaka bwe yali ng'atudde ku kitanda kye, Amafuta gange ag'omugavu ne gawunya akaloosa kaago. Muganzi wange ali gye ndi ng'omuvumbo gwa mooli, Oguteekebwa wakati w'amabeere gange. Muganzi wange ali gye ndi ng'ekisaaganda ky'ebimuli ebya kofera Mu nsuku ez'emizabbibu ez'e Engedi. Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi; Amaaso go mayiba. Laba, oli mulungi, muganzi wange, weewaawo, osanyusa; Era ekitanda kyaffe kya malagala mato. Emikiikiro gy'ennyumba yaffe mivule, N'emirabba gya nkanaga. Nze ndi kimyula kya Saloni, Eddanga ery'omu biwonvu. Ng'eddanga mu maggwa, Gwe njagala bw'ali bw'atyo mu bawala. Ng'omucungwa mu miti egy'omu kibira, Muganzi wange bw'ali bw'atyo mu balenzi. N'atuula wansi w'ekisiikirize kye n'essanyu lingi, Ebibala bye ne biwoomera amatama gange. Yannyingiza mu nju ey'okuliiramu embaga, Ne bendera ye eyali ku nze kwagala. Munkwatirire n'ezabbibu enkalu, munsanyuse n'amacungwa; Kubanga okwagala kundwazizza. Omukono gwe ogwa kkono guli wansi w'omutwe gwange, N'omukono gwe ogwa ddyo gunkutte. Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira. Eddoboozi lya muganzi wange! laba, ajja, Ng'abuukirabuukira ku nsozi, ng'azinira ku busozi. Muganzi wange ali ng'empeewo oba ennangaazi ento, Laba, ayimirira emabega w'olukomera lwaffe, Alingiza mu ddirisa, Yeeraga ng'atunuulira mu kamooli. Muganzi wange yayogera n'aŋŋamba Nti, Golokoka, gwe njagala, omulungi gye ndi, tugende tuvve wano. Kubanga, laba, ttoggo aweddeko, Enkuba eyise egenze; Ebimuli kati wonna byanyizza; Ebiro bituuse ennyonyi mwe ziyimbira, N'eddoboozi lya kaamukuukulu liwulirwa mu nsi yaffe; Omutiini gwengeza ettiini zaagwo embisi, N'emizabbibu gimulisizza, Giwunya akaloosa kaagyo. Golokoka, gwe njagala, omulungi gye ndi, tugende tuvve wano. Ayi ejjiba lyange, abeera mu njatika ez'omu jjinja, mu bifo ebyekusifu eby'omu lwazi olugulumivu, Leka ndabe amaaso go, mpulire ne ku ddoboozi lyo; Kubanga eddoboozi lyo ddungi, n'amaaso go gasanyusa. Mutukwatire ebibe, ebibe ebito, ebyonoona ensuku ez'emizabbibu; Kubanga ensuku zaffe ez'emizabbibu zimulisizza. Muganzi wange, nange ndi wuwe, Aliisizza ekisibo kye mu malanga. Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala, Kyuka, muganzi wange, obe ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi eza Beseri. Ekiro ku kitanda kyange nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala; Namunoonya, naye ne ssimulaba. Ne njogera nti, “N'agolokoka kaakano ne ntambulatambula mu kibuga, Mu nguudo ne mu bifo ebigazi, Nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala;” Namunoonya, naye ne ssimulaba. Abakuumi abatambulatambula ekibuga ne bandaba, Ne mbagamba nti Mulabye oyo emmeeme yange gw'eyagala? Nnali mbayiseeko katono, Ne ndaba oyo emmeeme yange gw'eyagala. Ne mmunyweza ne ssikkiriza kumuta, Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange, Ne mu kisenge ky'oyo anzaala. Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira. Ani ono ajja ng'alinnya ng'ava mu ddungu afaanana empagi ey'omukka, Ng'asiigiddwa eby'akaloosa ebya mooli n'omugavu, N'eddagala lyonna ery'omusuubuzi? Laba, ke kadyeri ka Sulemaani, Abasajja ab'amaanyi nkaaga (60) bakeetoolodde, Ku basajja ab'amaanyi aba Isiraeri. Bonna bakwata ekitala, ba magezi okulwana, Buli muntu yeesiba ekitala kye mu kiwato, Olw'entiisa ekiro. Kabaka Sulemaani yeekolera eggaali Ey'emiti egy'oku Lebanooni. Empagi zaayo yazikola za ffeeza. Wansi waayo zaabu, entebe yaayo lugoye lwa ffulungu, Wakati waayo nga waaliriddwa n'okwagala, Okuva eri abawala ba Yerusaalemi. Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mutunuulire kabaka Sulemaani, Ng'alina engule nnyina gy'amutikkiridde ku lunaku kw'afumbiriddwa, Era ku lunaku omutima gwe kwe gusanyukira. Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi! Amaaso go mayiba emabega w'olugoye lwe Weebisseeko. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamidde ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi. Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezzadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu. Emimwa gyo giri ng'ewuzi ey'olugoye olutwakaavu, N'akamwa ko kalungi, Amatama go galinga ekitundu ky'ekkomamawanga; Emabega w'olugoye lw'obisse ku maaso. Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okuterekamu eby'okulwanyisa, Omuwanikibwa engabo olukumi (1,000), Engabo zonna ez'abasajja ab'amaanyi. Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga. Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala, Nja kugenda mbeere ku lusozi olwa mooli. Ne ku kasozi ak'omugavu. Oli mulungi wenna, gwe njagala; So ku ggwe tekuli bbala. Jjangu tugende ffembi okuva ku Lebanooni, mugole wange, Tugende ffembi okuva ku Lebanooni. Lengera ng'oyima ku ntikko ya Amana, Ku ntikko ya Seniri ne Kerumooni, Lengera ng'oyima awali empuku ey'empologoma, Ne ku nsozi ez'engo. Osanyusizza omutima gwange, omwagalwa, mugole wange; Osanyusizza omutima gwange, n'eriiso lyo erimu, N'omukuufu ogumu ogw'omu bulago bwo. Okwagala kwo nga kulungi, omwagalwa, mugole wange! Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi. Emimwa gyo, ayi mugole wange, giwomerera ng'ebisenge by'enjuki: Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'akawoowo ak'ebyambalo byo kali nga ng'akawoowo aka Lebanooni. Omwagalwa, mugole wange, lwe lusuku olwasibibwa; Lwe luzzi olwasibibwa, ye nsulo eyateekebwako akabonero. Ebimera by'olusuku lwa mikomamawanga, olulina ebibala eby'omuwendo omungi; Kofera n'emiti egy'omugavu, Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akaloosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi. Ggwe nsulo y'ennimiro, Oluzzi olw'amazzi amalamu, Era emigga egikulukuta egiva ku Lebanooni. Muzuukuke, mmwe embuyaga eziva e bukiikakkono; nammwe mujje, ez'obukiikaddyo. Mukuntire ku nnimiro yange, eby'akaloosa ebyamu bikulukute. Muganzi wange ajje mu nnimiro ye; Alye ebibala bye eby'omuwendo omungi. Nzize mu nnimiro yange, omwagalwa, mugole wange; Nnoze mooli yange n'eby'akaloosa byange; Ndidde ebisenge byange eby'enjuki n'omubisi gwange; Nnywedde omwenge gwange n'amata gange. Mulye, mmwe ab'omukwano; Munywe, weewaawo, mukkute, mmwe baganzi bange. Nnali neebase, naye omutima gwange nga gulaba: Ne mpulira eddoboozi lya muganzi wange, nga akonkona ku luggi ng'ayogera nti: Nzigulira, omwagalwa, gwe njagala, ejjiba lyange, owange ataliiko bbala: Kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, Emivumbo gy'enviiri zange gitobye amatondo g'omusulo ag'ekiro. Nnyambudde ekizibawo kyange; nnaakyambala ntya? Nnaabye ebigere, nnaabyonoona ntya? Muganzi wange n'ayingiza omukono gwe awali ekituli eky'omu luggi, Omwoyo ne gunnuma ku lulwe. Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange; Emikono gyange ne gitonnya mooli, N'engalo zange nga zitonnya mooli ekulukuta, Ku mikonda egy'ekisiba eky'oluggi. Ne nzigulirawo muganzi wange; Naye muganzi wange yali nga yagenze dda, ng'avuddewo. Bw'ayogedde omwoyo gwange ne guntyemuka, Ne mmunoonya, naye ne ssiyinza kumulaba; Ne mmuyita, naye n'atanziramu. Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bandaba, Ne bankuba ne banfumita; Abakuumi babbugwe ne banziggyako omunagiro gwange. Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, bwe munaalaba muganzi wange, Mumubuulirenga ng'okwagala kugenda kunzita. Muganzi wo kye ki okusinga omulala, Ggwe akira abakazi bonna obulungi? Muganzi wo kye okusinga omuganzi omulala, N'okutulayiza n'otulayiza bw'otyo? Muganzi wange mulungi era mumyufu Ali omu yekka mu bantu omutwalo. Omutwe gwe gulinga zaabu ennungi ennyo nnyini, Emivumbo gy'enviiri ze gya masadde era middugavu nga nnamuŋŋoona. Amaaso ge gali ng'amayiba ku mabbali g'obugga obw'amazzi; Agaanaazibwa n'amata era agaateekebwamu obulungi. Amatama ge gali ng'omusiri ogw'emiddo egy'akaloosa, ng'ebifunvu ebimerako enva eziwunya obulungi, Emimwa gye giri ng'amalanga, nga gitonnya mooli ekulukuta. Emikono gye giri ng'empeta eza zaabu eziteekebwamu berulo, Omubiri gwe guli ng'omulimu ogw'amasanga ogubikkiddwako safiro. Amagulu ge gali ng'empagi ez'amayinja amanyirivu ezisimbibwa ku binnya ebya zaabu ennungi: Enfaanana ye eringa Lebanooni, ewooma nnyo nnyini ng'emivule. Akamwa ke kalungi nnyo nnyini, weewaawo, yenna wa kwagalwa. Muganzi wange bw'ali bw'atyo, era bw'ali bw'atyo mukwano gwange, Mmwe abawala ba Yerusaalemi. Muganzi wo agenze wa, Ggwe akira abakazi bonna obulungi? Muganzi wo yeekyusiririza wa, Tumunoonyeze wamu naawe? Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu nnimiro omuli ebimera egy'akaloosa, Okulundira mu nnimiro eggana lye, n'okunogayo amalanga. Nze ndi wa muganzi wange, ne muganzi wange wange: Aliisizza ekisibo kye mu malanga. Oli mulungi, ayi gwe njagala, oli mulungi ng'ekibuga Tiruza, oli mubaalagavu nga Yerusaalemi, Wa ntiisa ng'eggye eririna ebendera. Nziggyaako amaso go, Kubanga gampangudde. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamira ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi. Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga enkazi, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezzadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwako n'emu. Amatama go galabika bulungi ng'ekkomamawanga erisaliddwamu awabiri; Emabega w'olugoye lw'obisse ku maaso go. Waliwo bakabaka abakazi nkaaga (60), n'abazaana kinaana (80), N'abawala abatamanyi musajja abatabalika. Ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ali omu yekka; Mwana wa nnyina omu yekka; Mulonde era nnyina gwasinga okwagala. Abawala baamulaba ne bamuyita eyaweebwa omukisa; Bakabaka abakazi n'abazaana baamulaba ne bamutendereza. Ani oyo atunula ng'emmambya, Omulungi ng'omwezi, Atangalijja ng'enjuba, Ow'entiisa ng'eggye eririna ebendera? N'aserengeta mu nnimiro ey'ebinyeebwa eby'oku muti, Okulaba ebisimbe ebibisi ebikulira mu kiwonvu, Okulaba omuzabbibu oba nga gumulisizza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza. Nga sinnamanya emmeeme yange yajjula essanyu; Nenfaanana ng'omuntu ali mu ggaali lya bakungu. Komawo, komawo, ggwe Omusulamu; Komawo, komawo, tukulabe. Kiki ekibaagaza okuntunuulira nze omuwala w'e Sulamu, Ng'amazina wakati we bibinja ebibiri? Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w'omulangira! Ennyingo z'ebisambi byo ziri ng'eby'obuyonjo, Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba. Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, kye bataddemu omwenge ogutabuddwamu ebiguwoomesa: Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano Eyetooloddwa amalanga. Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo. Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga; Amaaso go galinga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu. Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Ddamasiko. Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri, N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu; Kabaka asikirizibwa emivumbo gyazo ne gimusiba. Ng'oli mulungi, mubalagavu, Ayi gwe njagala, olw'okusanyusa! Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu. N'ayogera nti N'alinnya mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo; Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa; Ebigambo by'omu kamwa ko biri ng'omwenge ogusinga okuwooma, Ogwo gwe mwenge ogusanidde okunywebwa muganzi wange, Nga guyita mu mimwa gye n'amannyo ge biryoke byenuguune. Nze ndi wa muganzi wange, Naye yeegomba nze. Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tusule mu byalo. Tugende mu nsuku z'emizabbibu ku makya; Tulabe omuzabbibu oba nga gumulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange. Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ayi muganzi wange. Singa nno obadde mwannyinaze, Eyayonka amabeere ga mmange! Bwe nnandikulabye ebweru, nandikunywegedde; Weewaawo, so tewandibaddewo eyandinnyoomye. Nnandikuleese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, N'onjigiririza eyo okwagala; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, ne ku mubisi omusogole mu makkomamawanga. Omukono gwo ogwa kkono gwandibadde wansi w'omutwe gwange, N'omukono gwe ogwa ddyo gwandimpambaatidde. Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira. Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu, Nga yeesigama ku muganzi we? Nakuzuukusa wansi w'omucungwa: Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala. Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; Obuggya bwenkana amagombe obukambwe, Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, Okwokya kwennyini okw'ennimi ezeememula. Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta, Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Afuna kunyoomebwa kwoka. Tulina mwannyinaffe omuto, Era tannamera bbeere. Tulimukola tutya mwannyinaffe Ku lunaku lwe balimwogererezaako? Mwannyinaffe oyo bwaba nga ekisenge, Twalimuzimbyeko ekigo kya ffeeza, Era singa yali nga luggi, Twalimubisseeko embaawo ez'emivule. Ndi bbugwe, n'amabeere gange gali ng'eminaala gyakwo; Ne ndyoka mbeera mu maaso ge ng'omuntu aleeta emirembe. Sulemaani yalina olusuku lw'emizabbibu e Baalukamooni; Olusuku olwo nnalupangisa abalimi; Buli muntu yasalirwa okusasula ebitundu ebya ffeeza lukumi (1,000); olw'ebibala byamu. Olusuku olw'emizabbibu lwange, olwange, lunaaba mu maaso gange; Ggwe, Sulemaani, onoosigala n'olukumi lwo (1,000), N'abo abakuuma ebibala byamu banasigaza bibiri (200). Ggwe abeera mu nnimiro, Banno bawuliriza eddoboozi lyo, Nange kandiwulireko. Yanguwa, muganzi wange, Obeere ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi ez'eby'akaloosa. Okwolesebwa kwa Isaaya omwana wa Amozi, kwe yalabanga ku Yuda ne Yerusaalemi, mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda. Wulira, ggwe Eggulu, era tega okutu, ggwe Ensi, kubanga Mukama ayogedde: nnayonsa ne ndera abaana, naye ne banjeemera. Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya Mukama waayo; naye Isiraeri tammanyi, abantu bange tebalowooza. Woowe eggwanga eririna ebibi, abantu abajudde obutali butuukirivu, ezzadde ery'abakola ebibi, abaana aboonoona! balese Mukama, banyoomye Omutukuvu wa Isiraeri, basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega. Lwaki mweyongera okujeema? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Omutwe gwo gwonna gulwadde, n'omutima gwo gwonna gunafuye. Okuva munda w'ekigere okutuuka ku mutwe temuli bulamu wabula ebiwundu, n'okuzimba, n'amabwa agatirika omusaayi, agatanyigibwanga, agatasibibwanga, wadde okusiigibwako eddagala. Ensi yammwe esigadde matongo, ebibuga byammwe byokeddwa omuliro; Ensi yammwe, ab'amawanga bagiwamba nga mulaba, ne basaanyawo byonna ebigirimu. Era omuwala wa Sayuuni alekeddwa ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu, ng'ekiwumulirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu, ng'ekibuga ekizingiziddwa. Mukama ow'eggye singa teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo, twandibadde nga Sodomu, twandifaananye nga Ggomola. Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafuga Sodomu! mutege okutu eri amateeka ga Katonda waffe, mmwe abantu ab'e Ggomola! Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira? bw'ayogera Mukama; Nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n'amasavu g'ensolo zammwe ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, oba ogw'endiga, oba ogw'embuzi ennume, Bwe mujja okulabika mu maaso gange, ani eyabasalira kino, okulinnyirira empya zange? Temuleetanga nate ebitone ebitaliimu. obubaane bwa muzizo gye ndi; emyezi egibonese ne Ssabbiiti n'okuyita amakuŋŋaaniro, Ssisobola kugumiikiriza butali butuukirivu na kukuŋŋaana kwa ddiini. Emyezi gyammwe egibonese n'embaga zammwe eziragiddwa emmeeme yange ebikyaye, bifuuse mugugu gye ndi; nkooye okubigumiikirizanga. Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo ssiiwulirenga emikono gyammwe gijjude omusaayi. Munaabe, mwerongoose; muggyirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi. Mukomye okukola obubi. Muyige okukolanga obulungi. Munoonyenga amazima. Mudduukirirenga abajoogebwa, mulwanirirenga atalina kitaawe, muwolerezenga nnamwandu. Mujje nno, tuteese ffembi, bw'ayogera Mukama: ebibi byammwe ne bwe biba ng'olugoye olumyufu, binaaba byeru ng'omuzira; ne bwe binaaba bikwafu nga langi emyufu, binatukula ng'ebyoya by'endiga. Bwe munaagondanga ne muwulira, munaalyanga ebirungi eby'ensi: naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala; kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. Ekibuga ekyesigwa nga kifuuse omwenzi! oyo eyajjulanga amazima! obutuukirivu bwatulanga mu ye, naye kaakano kirimu bassi. effeeza yo efuuse masengere, omwenge ogutabuddwamu amazzi. Abalangira bo bajeemu, mikwano gya babbi. Buli muntu yeegomba enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebalwanirira atalina kitaawe, n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gyebali. N'olwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, Ow'amaanyi owa Isiraeri, nti, “Nja kufuka obusungu ku abalabe bange, era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa. era ndikuteekako omukono gwange, ne nnongooseza ddala amasengere go gonna, nkufuule ekintu ekirungi. era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye, n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka; oluvannyuma oliyitibwa kibuga kya butuukirivu, ekibuga ekyesigwa.” Sayuuni alinunulibwa mu mazima, na beenenya mu ye n'obutuukirivu. Naye abajeemu n'abalina ebibi balizikiririra wamu, n'abo abaleka Mukama balimalibwawo. Kubanga ensonyi ziribakwata olw'emivule gye mwegomba, era muliswazibwa olw'ensuku ze mweroboza. Kubanga muliba ng'omuvule oguwotoka amakoola, era ng'olusuku omutali mazzi. Era ow'amaanyi aliba ng'enfuuzi, n'omulimu gwe ng'olusasi olw'omuliro; era byombi biriggira wamu, so tewaliba abizikiza. Ekigambo Isaaya mutabani wa Amozi kye yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi. Awo olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, olusozi olw'ennyumba ennyumba ya Mukama luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo. Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti, Mujje, twambuke eri lusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo, era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze; kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. Era aliramula mu amawanga, era alinenya abantu bangi; era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate. Mmwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu musana gwa Mukama. Kubanga waleka abantu bo, ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde abasawo okuva ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakuba mu ngalo ne bannamawanga. Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n'ezaabu, so n'obugagga bwabwe tebuliiko kkomo. Era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n'amagaali gaabwe tegaliiko kkomo. Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw'emikono gyabwe bo, engalo zaabwe bo gwe zaakola. Omukopi n'avuunama, n'omukulu yeetoowaza: kyova olema okubasonyiwa. Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe. Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa, n'amalala g'abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye eri byonna ebyekuza ebirina amalala, n'eri byonna ebigulumizibwa era biriwanulibwa. N'eri enfugo zonna eze Lebanooni, empavu ezigulumizibwa, n'eri emivule gyonna egy'e Basani. n'eri ensozi zonna Empavu, n'eri obusozi bwonna obugulumivu; n'eri buli kigo ekiwanvu, na buli bbugwe omugumu. n'eri ebyombo byonna eby'e Talusiisi, n'eri ebifaananyi byonna ebirungi. Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa, n'amalala g'abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. N'ebifaananyi biriggweerawo ddala. Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi. Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala ebifaananyi byabwe eby'effeeza n'ebifaananyi byabwe eby'ezaabu, bye beekolera okusinzanga, eri emmese ne binyira, bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi. Muleke abantu, omukka gwabwe guli mu nnyindo zaabwe, kiki ennyo kye bali? Kubanga, laba, Mukama, Mukama ow'eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza n'ekyo kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna eky'emmere, n'ekibeesiguza kyonna eky'amazzi; omusajja ow'amaanyi, n'omusirikale, omulamuzi ne nnabbi, n'omulaguzi n'omukadde, omukulu ow'ataano (50), n'ow'ekitiibwa, n'ateesa ebigambo ne ffundi ow'amagezi n'omufumu omukalabakalaba. Era ndireeta abalenzi okuba abalangira baabwe, era abaana abawere balibafuga. Era abantu balijoogebwa, buli muntu alijooga munne, na buli muntu muliraanwa we; omuvubuka aligirira ekyejo omukadde, n'omukopi aligirira ekyejo ow'ekitiibwa. Omuntu bw'alikwata muganda we mu nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera nti “Ggwe olina eby'okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, ne ntumu ya bino ebyonoonese, bibeere wansi w'omukono gwo,” Naye ku lunaku olwo aliddamu nti, “Si nze nnaaba ow'okubawonya, kubanga mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo: Temunnonda kubakulira.” Kubanga Yerusaalemi kizikiridde, ne Yuda agudde: kubanga bye boogera n'ebikolwa byabwe biwakanya Mukama, bityoboola ekitiibwa kye. Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, ebibi byabwe babikola kyere ng'ab'e Sodomu, tebabikisa. Zibasanze, kubanga bo bennyini be beereetedde obubi. Mugambe abatuukirivu nti bo tebabeeko mutawaana, kubanga balirya ebibala bye bikolwa byabwe. Zisanze omubi! anaabanga bubi, kubanga emikono gye kye gy'akola, naye kyalikolebwa. Abantu bange bajoogebwa abaana abato, era abakazi be babafuga! Woowe abantu bange, abakulembeze bammwe babakyamya, baabaggya mu kkubo ettuufu. Mukama ayimiridde mu kifo kye okuwakanya, ayimiridde okusalira abantu be omusango. Mukama anaasalira omusango abakadde n'abakulembeze b'abantu be. Abalumiriza bw'ati, “Mmwe munyaguludde ensuku z'emizabbibu; era bye munyaze ku baavu biri mu nnyumba zammwe: mubadde mutya mmwe ababetenta abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu? Bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.” Mukama agamba nti, “Abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo, era nga batunuza bukaba, batambula basiira nga bakoona engatto zaabwe.” Mukama kyaliva afuula emitwe gy'abawala ba Sayuuni egy'ebiwalaata, baswale. Ku lunaku olwo Mukama alibaggyako byonna eby'obuyonjo ebibaleetera okwekulumbaza: bye bambala ku bukongovvule, bye batikkira ku mitwe gyabwe, ne bye beenaanika mu bulago, ne ku mikono gyabwe, n'ebitambaala bye beebikkirira mu maaso, eby'oku mitwe, n'obudangadi, n'enneebagyo, n'obucupa obw'akaloosa, n'embira ze beesiba mu biwato; empeta ze beenaanika ku ngalo, ne ze beetunga mu nnyindo; engoye ez'ebbeeyi, n'eminagiro, n'essuuka ze beesuulira, n'ensawo ez'omu ngalo; endabirwamu, n'engoye ez'obutimba, n'ezo enjeru ennungi, n'obutambaala obwo ku mutwe, n'obutimba obubika amaaso. Awo olulituuka mu kifo ky'akaloosa walibaawo kuwunya kivundu. Mu kifo ky'olwebagyo, balyesibya miguwa. Mu kifo ky'enviiri ensunsule obulungi baliba na biwalaata. Mu kifo ky'engoye ennungi balyambala nziina, obulungi bwabwe bulifuuka nsonyi. Abasajja bo balittibwa na kitala, n'abalwanyi bo abazira balifiira mu lutalo. Enzigi za Yerusaalemi zirikungubaga, ne zitema emiranga. Ekibuga kyennyini kiriba ng'omukazi akubiddwa ennaku, atuula ku ttaka ng'asobeddwa. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu, nga bagamba nti, “Ffe tuneenoonyezanga emmere n'eby'okwambala, naye kkiriza tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume eky'obutafumbirwa.” Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biriba birungi era biriwoomera nnyo abaliba bawonyeewo mu Isiraeri. Buli aliba asigaddewo mu Sayuuni, n'oyo aliba asigaddewo mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, buli muntu aliwandiikiddwa mu balamu mu ab'omu Yerusaalemi. Mukamamu buyinza bwe alinaaliza ddala obubi bwa abawala ba Sayuuni, era alinaaza ku Yerusaalemi omusaayi n'omwoyo ogw'okulamula, n'omwoyo ogw'omuliro. Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ne ku bantu abakikuŋŋaaniddeko, ekire emisana n'omukka, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga ekitiibwa kya Katonda kiribikka ekibuga kyonna, ne kikikuuma. Ekitiibwa ekyo kirisiikiriza ekibuga okukiwonya ebbugumu emisana, era kiriba kifo mwekwekebwa okuwona kibuyaga n'enkuba. Ka Nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye ey'emizabbibu. Omwagalwa wange yalina ennimiro ey'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo. Yalulima n'alusigulamu amayinja gaamu, n'alusimbamu emizabbibu emirungi ennyo, n'aluzimbamu wakati omunaala ogw'okukuumiramu, era n'alusimamu essogolero: n'asuubira nti lunamubalira ezabbibu ennungi naye ne lumubalira ezabbibu ez'omu nsiko. Kale nno, mmwe abatuuze b'omu Yerusaalemi nammwe ab'omu Yuda, mutusalire omusango, mbeegayiridde, nze n'olusuku lwange olw'emizabbibu. Kiki nate kye nandikoledde ennimiro yange eyo ey'emizabbibu kye ssaagikolera? Lwaki bwe nnasuubira ebale ezabbibu ennungi, yabala ezabbibu ez'omu nsiko? Kale nno kaakano kambategeeze kye nnaakolera ennimiro yange eyo: nja ku giggyako olukomera lwayo, mmenyewo ekigo ekigikuuma ebisolo biriiremu era bigirinnyirire. Nja kugizisa, terimwenga era tesalirwenga. Erimeramu emyeramannyo n'amaggwa, era ndiragira ebire obutagitonnyesangako nkuba. Ennimiro ey'emizabbibu eya Mukama ow'eggye ye nnyumba ye Isiraeri, n'abasajja ba Yuda kye kisimbe kye ekimusanyusa: yasuubiramu bwenkanya, naye yabalabamu kuyiwa musaayi. Yabasuubiramu butuukirivu naye alaba kujooga na kukaabya bantu. Zibasanze mmwe abagula ennyumba ne muzongera ku ezo ze mulina, era abongera ennimiro ku ezo ze mulina, okutuusa lwe munaamalawo buli kafo, ensi mugibeeremu mwekka. Mukama ow'eggye alayidde nga mpulira nti, “ Mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukwa. Ezo ennene era ennungi, teziribeeramu azibeeramu. Ennimiro y'emizabbibu eya yiika ekkumi (10), eneevangamu ekibbo kimu, ne kisero ky'ensigo kinaavangamu akabbo kamu kokka.” Zibasanze abo abakeera enkya ku makya okunoonya ekitamiiza; abalwawo nga banywa okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa. Ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere, n'omwenge bibeera ku mbaga zaabwe. Naye tebalowooza ku ebyo Mukama by'akola wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda. Kale abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse kubanga babulwa okutegeera. Abantu baabwe ab'ekitiibwa balifa enjala, n'abantu baabwe bonna ennyonta eribatta. Amagombe kye galiva gagaziya okwegomba kwago, ne gaasamya akamwa kaago okubamira. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe n'abantu baabwe bangi ababadde bakola effujjo n'okukuba embeekuulo. Buli muntu aliswazibwa, n'abamalala balitoowazibwa. Naye Mukama ow'eggye aligulumizibwa olw'obwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw'ali omutukuvu mu butuukirivu bwe. Endiga ento ziryoke zirye ng'eziri mu malundiro gaazo, n'embuzi ento ziriire mu bifo ebyalekebwa awo. Zibasanze abo abawalula ebibi byabwe, ng'abakulula ekigaali kye basibyemu omuguwa. Aboogera nti, “Mukama ayanguyeeko, by'akola tubirabe. Enteekateeka z'Omutukuvu wa Isiraeri nazo zijje, zituuke tuzimanye.” Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n'ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'omusana, n'omusana mu kifo ky'ekizikiza; abateeka ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera, n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa! Zibasanze abo abeemanyi bwe bali abagezi, era abakalabakalaba mu kulaba kwabwe bo! Zibasanze abo abalina amaanyi okunywa omwenge, era abazira okutabula ekitamiiza: abateeka obutuukirivu ku babi olw'enguzi, era abaggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe! Kale ng'omuliro bwe gwokya ekisambu n'essubi ekkalu, bwe kityo ekikolo kyabwe bwe kirivunda, n'ekimuli kyabwe kirifuumuuka ng'enfuufu: kubanga baagaananga amateeka ga Mukama ow'eggye, era baanyoomanga ekigambo eky'Omutukuvu wa Isiraeri. N'olwekyo obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuukira ku bantu be, era agolodde omukono gwe okubabonereza. Ensozi zijja kukankana, n'emirambo gyabwe gisigale ng'ebisasiro wakati mu nguudo. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, naye obusungu bwe tebunnaba kuggibwawo, n'omukono gwe gukyagoloddwa. Aliwenya amawanga agali ewala, alibakoowoola okuva mu buli nsonda y'ensi, era balyanguwa mangu okujja. Tewaliba mu bo akoowa newakubadde alyesittala okugwa; tewaliba abongoota newakubadde eyeebaka. Enkoba zaabwe ze b'esiba tezirisumulukuka, wadde obukoba bw'engatto zaabwe okukutuka. Obusaale bwabwe bwa bwogi, n'emitego gyabwe gyonna mireege; ebinuulo by'embalaasi zaabwe bigumu ng'amayinja ag'embaalebaale, ne nnamuziga z'amagaali gaabwe zidduka nga mbuyaga. Okuwuluguma kwabwe kuliba ng'empologoma, ekutte omuyiggo gwayo, ne gutwalira ddala awatali addukirira. Olunaku olwo bwe lulituuka baliwuumira ku Isiraeri, ng'ennyanja bwewuuma. Omuntu bw'alitunuulira ensi eyo, aliraba kizikiza na buyinike, n'ebire biriziyiza omusana okwaka. Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nnalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu era engulumivu, n'ekirenge ky'ekyambalo kye nga kijjuzizza Yeekaalu. Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri nga bibisse ku maaso ge, n'ebibiri nga bibisse ku bigere bye, n'ebibiri nga bye yeeyambisa okubuuka. Omu n'ayogerera waggulu n'agamba munne nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama ow'eggye: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.” Eddoboozi ly'Oyo eyayogerera waggulu ne likankanya emisingi gy'emiryango, Yeekaalu n'ejjula omukka. Ne ndyoka njogera nti, “Zinsanze! nfudde nze, kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu aboogera ebitali birongoofu. Naye ate nzuuno kaakano amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye.” Awo omu ku basseraafi n'alyoka abuuka n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo; n'alikomya ku mimwa gyange n'agamba nti, “Laba, lino likomye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.” Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, ng'agamba nti, “Naatuma ani, Ani anaagenda ku lwaffe?” Nze ne nziramu nti, “Nze, nzuuno: tuma nze.” N'aŋŋamba nti, “Genda obuulire abantu abo nti, ‘Okuwulira muwulira naye temutegeera; okulaba mulaba, naye temwetegereza. Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, okukyuka, okuwonyezebwa.’ ” Nze ne ndyoka mbuuza nti, “Mukama wange, ekyo kirituusa ddi okuba bwe kityo?” N'addamu nti, “Okutuusa ng'ebibuga bifuuse amatongo, nga tewali babibeeramu, n'amayumba nga tegakyalimu bantu, n'ensi ng'ezikidde ddala. Nze Mukama ndisengula abantu ne mbatwala ewala, ebifulukwa ne biba bingi mu nsi eyo. Naye ekimu eky'ekkumi eky'abantu abo kiriba nga kikyasigaddewo. Newakubadde nga kiryokebwa, naye kiriba ng'omumyuliru oba ng'omuvule ogutemebwa, ne gusigazaawo ekikolo, ate ekyo ne kiba ensigo kwe gusibukira.” Awo olwatuuka, Akazi mutabani wa Yosamu, muzzukulu wa Uzziya, bwe yali nga ye kabaka mu Yuda, Lezini kabaka w'e Busuli, ne Peka mutabani wa Lemaliya, nga ye kabaka mu Isiraeri, ne balumba Yerusaalemi okukirwanyisa, naye ne kibalema okuwangula. Bwe baabulira ennyumba ya Dawudi nti Obusuuli bwekobaanye ne Efulayimu, omutima gwa kabaka n'ogw'abantu be ne gunyeenyezebwa, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa embuyaga. Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano ogende ne mutabani wo Seyalusayubu, osisinkane Akazi, mu kifo omukutu gw'ekidiba eky'engulu we gukoma, ku luguudo olugenda ku nnimiro y'omwozi w'engoye.” Omugambe nti, “Weekuume, kkakkana, totya, era toggwaamu maanyi. Obusungu n'obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obwa mutabani wa Lemaliya, buli ng'omukka ogw'emimuli ebiri egiggweeredde, ogunyooka. Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza bubi ku ggwe, nga bagamba nti, Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule mutabani wa Tabeeri okuba kabaka waakyo. Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ekyo tekijja kubaawo, tekijja kutuukirira. Kubanga Lezini afuga Busuli yekka n'ekibuga kyayo ekikulu Ddamasiko, Naye mu bbanga lya myaka enkaaga mu etaano (65), Efulayimu alibetentebwatentebwa nga takyayinza kuba ggwanga. Ekibuga ekikulu ekya Efulayimu ye Samaliya, ne kabaka wa Isiraeri ye Peka mutabani wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.” Awo Mukama n'atumira Akazi obubaka obulala ng'amugamba nti, “Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba oba mu bbanga waggulu.” Naye Akazi n'addamu nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kukema Mukama.” Isaaya n'ayogera nti, Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu era n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange? Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Imanueri. W'alituukira okwawula ekirungi n'ekibi aliba alya muzigo n'omubisi gw'enjuki. Era ekyo bwe kiriba tekinatuukirira, ensi ezo z'okyawamu bakabaka baazo ziriba zaabuliddwa. Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda. Ajja kubaleetera kabaka w'e Bwasuli. Olunaku olwo nga lutuuse, Mukama alikoowoola Abamisiri okujja ng'ensowera, nga bava mu bifo eby'ewala, eby'oku mugga gwe Misiri, n'Obwasuli okujja ng'enjuki nga bava mu nsi yaabwe. Balijja bonna ne beeyiwa mu biwonvu ebyazika, ne mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bisaka byonna eby'amaggwa, ne mu malundiro gonna. Ku lunaku olwo Mukama alimwesa akamwano akapangise ak'emitala w'emigga, ye Kabaka w'e Bwasuli, alibamwako enviiri ku mutwe, n'obwoya bw'okumagulu, alibasalirako ddala n'ebirevu. Olunaku olwo bwerulituuka, omuntu ne bw'aliba asigazizzaawo ente eyonsa ento n'endiga bbiri, amata amangi ge zirigabiza galisundwamu omuzigo: kubanga buli muntu aliba asigadde mu nsi eyo, anaalyanga omuzigo n'omubisi gw'enjuki. Era ku lunaku olwo, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi (1,000), buli gumu nga gwa sekeri lukumi (1,000), kiriba kisigaddemu myeramannyo n'amaggwa. Abantu banaayiggiranga omwo n'emitego n'obusale, kubanga ensi yonna eriba ejjudde myeramannyo n'amaggwa. Obusozi bwonna okwalimwanga, buliba buzise ng'omuntu tasobola kutuukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga. Mukama n'aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene, okiwandiikeko munnukuta ennene, nti Kya Makeru-salalu-kasubazi. Nange nnaleeta Uliya kabona, ne Zekkaliya mutabani wa Yeberekiya, okuba abajulizi bange okukikakasa.” Awo ne neegatta, nnabbi omukazi, n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'aŋŋamba nti, “Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasubazi. Kubanga omwana oyo aliba nga tannamanya kuyita nti, Taata oba nti, Maama, obugagga obw'e Ddamasiko, n'ebyo byonna Samaliya bye yanyaga, biriba bitwaliddwa kabaka w'e Bwasuli.” Mukama era n'ayogera nange omulundi omulala n'aŋŋamba nti, “Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi g'akagga Sirowa agakulukuta empola, ne basanyukira Lezini ne Peka mutabani wa Lemaliya; kale nno, Nze Mukama nja kuleeta ku bo amazzi amangi ag'amaanyi ag'Omugga, Fulaati, ye kabaka w'e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: amazzi ago galisukka ensalosalo zonna, ne ganjaala ku ttale lyonna. Galyeyongera ne gakulukuta okutuuka mu Yuda; galyanjaala ne gasituka ne gakoma mu bulago, ne gatuuka eyo n'eyo, ne gajjuza ensi eyo yonna gy'ekoma obugazi, ggwe Imanueri.” Muyoogaane, mmwe amawanga, naye mulimenyekamenyeka. Mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala, mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Muteeseze wamu kye munaakola, naye tekijja kutuukirira, mwogere ekigambo, naye tekijja kuyimirira, kubanga Katonda ali wamu naffe. Mukama yayogera nange bw'atyo mu buyinza bwe obw'amaanyi, n'andabula nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'agamba nti, “Ekyo abantu bano kye bayita okwekobana, ggwe tokiyita kwekobana, era totya bye batya, era tokankana.” Naye Mukama ow'eggye, oyo gwe muba mutwala nga omutukuvu, oyo gwe muba mutya, era oyo gwe muba mukankanira. Era alibafuukira ekifo ekitukuvu mwe muliwonera, naye eri ennyumba zombi eza Isiraeri, aliba ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi kwe balyekoona ne bagwa, era nelibafuukira omutego n'ekyambika abo bonna abatuula mu Yerusaalemi. Bangi abalyesittala ne bagwa, ne bamenyeka, balitegebwa ne bakwasibwa. Nyweza obujulirwa, ssa envumbo kw'ebyo ebiyigiriziddwa abayigirizwa bange. Nange nnaalindirira Mukama, akwese amaaso ge okuva mu ennyumba ya Yakobo, mu oyo mwe nnina essuubi. Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde tuli bubonero na byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni. Abantu bwe babagambanga nti, Mubuuze abo abaliko emizimu n'abalaguzi, abakaaba ng'ebinnyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu babibuuza bafu? Amateeka n'obujulirwa! oba nga tebyogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera. Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolimira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, nga batunudde waggulu, era bwe balitunuula wansi ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, kazigizigi ow'okubonyaabonyezebwa, era baligoberwa mu kizikiza ekikutte. Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali edda zaali zinyoomebwa, naye mu kiseera eky'oluvannyuma ndizifuula za kitiibwa, okuva ku nnyanja, emitala wa Yoludaani, okutuuka ku Ggaliraaya ey'abamawanga. Abantu abaatambuliranga mu kizikiza, balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde. Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng'abantu bwe basanyuka mu biseera eby'amakungula, ng'abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago. Kubanga ekikoligo ekyabazitoowereranga, n'omuggo ogwa bakubanga ku bibegabega byabwe, n'olugga lwabo ababajooganga, obimenyeemenye nga ku lunaku lwe wawangula Midiyaani. Kubanga buli ngatto ya musirikale ali mu lutalo, era n'ebyambalo ebikulukuunyiziddwa mu musaayi, birifuulibwa enku ne byokebwa omuliro. Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi atuweereddwa, anaabanga mufuzi waffe. Aliyitibwa Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ow'olubeerera, omulangira ow'emirembe. Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga. Alifuga nga ye musika wa Dawudi, alinyweza obwa kabaka bwe, ku musingi ogw'amazima n'obwenkanya, okuva leero n'okutuusa emirembe n'emirembe. Mukama ow'eggye amaliridde okutuukiriza ekyo. Mukama bye yalabula bazzukulu ba Yakobo, bituukiridde ku Isiraeri. Era abantu bonna balimanya, Efulayimu n'abatuula mu Samaliya, aboogera n'amalala n'obukakanyavu bw'omutima nti, Ebizimbe by'amatoffaali bigudde, naye tujja kuzimbya amayinja amoole; emisukamooli gitemeddwawo, naye mu kifo kyagyo, tunaazzaawo emivule Mukama kyaliva akunga abalabe ba Lezini, nabawaga okumulumba. Abasuuli okuva ebuvanjuba n'Abafirisuuti okuva ebugwanjuba balyasamya akamwa kaabwe okumira Isiraeri. Wadde nga ebyo byonna bimaze okubaawo, obusungu bwa Mukama buliba bukyaliwo, era aliba akyagolodde omukono gwe okubabonereza. Naye aba Isiraeri tebeenenya newaankubadde nga Mukama ow'eggye yabakuba, era tebaakyuka kumunoonya. Mukama kyaliva asala ku Isiraeri omutwe n'omukira, olukindu n'olumuli, ku lunaku lumu. Omusajja omukadde era ow'ekitiibwa gwe mutwe; ne nnabbi ayigiriza eby'obulimba gwe mukira. Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya, n'abo abakulemberwa babuzaabuzibwa. N'olwekyo Mukama tasanyukira bavubuka baabwe, era tasaasira abali mu bo abatalina bakitaabwe, wadde bannamwandu baabwe, kubanga buli muntu tamanyi Katonda era mukozi wa bibi era buli mumwa gwogera byabusirisiru. Olw'ebyo byonna obusungu bwa Mukama tebunnavaawo, era akyagolodde omukono gwe okubabonereza. Okwonoona kw'abantu kwokya ng'omuliro ogusaanyaawo emyeramannyo n'amaggwa, gukoleeza eby'omu kibira omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu. Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi egyiiridde ddala, era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro, tewali asonyiwa muganda we. Balimalawo eby'okulya eby'oku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala, balirya n'eby'oku kkono, naye tebalikutta era balituuka buli muntu okulya munne. Aba Manase n'aba Efulayimu balirumbagana, era balyegatta wamu ne balumba aba Yuda. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo naye obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era ng'akyagolodde omukono gwe okubabonereza. Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n'abawandiisi abawandiika ebinyigiriza abantu, ne balemesa abanaku okusalirwa amazima, era ne banyaga abantu bange abaavu ebyabwe, ebya bannamwandu n'eby'abafiiriddwako bakitaabwe ne mu bifuula omunyago gwammwe. Mulikola mutya ku lunaku Mukama lw'aliweerako ekibonerezo? Mulikola mutya lw'alibatuusaako akabi akaliva mu nsi ey'ewala? Muliddukira eri ani okubeerwa? Era mulikweka wa obugagga bwammwe? Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe oba okugwira mu abo abattiddwa. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo naye obusungu bwa Mukama buliba tebunaabavaako, aliba akyagolodde omukono okubabonereza. Ggwe Busuli, oli luga lwe nkwata nga nsunguwadde, omuggo oguli mu ngalo zo, gwe mbonerezesa be nninako ekiruyi. Mutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama, era musindika eri abantu abansunguwazizza, abanyage era atwalire ddala ebyabwe, abasambiririre ddala ng'ebitoomi eby'omu nguudo. Naye Busuli tagenderera kukola Nze kye njagala, era kino si ky'alowooza, wabula ekiri mu mutima gwe, kwe kuzikiriza n'okusaanyaawo amawanga agawerako. Yeewaana nga agamba nti, “Abaduumizi b'amagye gange bonna tebenkana bakabaka? Ekibuga Kalino tetwakiwangula nga bwe twawangula Kalukemisi? Kamasi tetwakiwangula nga bwe twawangula Alupadi? Samaliya tetwakiwangula nga bwe twawangula Ddamasiko? N'omukono gwange nnafufuggaza ensi za bakabaka ezisinza ebifaananyi ebibajje, ebisinga n'ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya. Sirikola Yerusaalemi n'ebifaananyi byakyo, nga bwenakola Samaliya n'ebifaananyi byakyo?” Awo Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, n'alyoka abonereza kabaka w'e Bwasuli, olw'amalala n'okwegulumiza kwe. Kubanga agamba nti, “Bino byonna mbikoze lw'amaanyi gange, lw'amagezi gange, n'abukalabakalaba bwange. Najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwago, era ng'omusajja ne ntowaza bakabaka baabwe. Amawanga ag'omu nsi nnasanganga gali ng'ekisu ky'ennyonyi, ne nkuŋŋaanya obugagga bwago ng'akuŋŋaanya amagi agalekeddwa awo, awatali kinyonyi kipapaza kiwaawaatiro kyakyo, wadde okwasamya akamwa kakyo okukaaba okukanga! Embazzi eyinza okwewaana nti yeesiga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza okusinga oyo agusazisa? Gy'obeera nti oluga luyinza okuwuuba oyo alukozesa, oba omuggo okusitula omuntu.” N'olwekyo Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obulwadde obukozza mu basajja be abalwanyi abamaanyi, era mu kifo ky'ekitiibwa ky'abadde yeemanyi, Mukama alikoleezaawo omuliro ogulimwokya. Mukama oyo omusana gwa Isiraeri, aliba muliro. Katonda Omutukuvu wa Isiraeri, aliba nnimi ez'omuliro, ogulyokya ne gumalawo mu lunaku lumu abo abali ng'amaggwa n'emyeramannyo. Ekitiibwa ky'ekibira kye, n'ennimiro ye engimu, Mukama alibisaanyizaawo ddala, obulamu era n'omubiri, ng'omusajja omulwadde bwaggwerawo ddala. N'emiti egy'omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono, n'omwana omuto ng'ayinza okugibala. Awo olulituuka ku lunaku luli, abaliba nga bafisseewo ku Isiraeri, n'abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba: naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima. Ekitundu ekirifikkawo, ekirifikkawo ku nnyumba ya Yakobo, kiridda eri Katonda ow'amaanyi. Newaankubadde nga kaakano abantu ba Isiraeri bangi ng'omusenyu ogw'ennyanja, naye kitundu butundu ku bo ekirifikkawo kye kirikomawo: kubanga Katonda yakisalawo bazikirizibwe nga kibasaanidde. Ddala Mukama ow'eggye alireeta okuzikirira mu ggwanga lyonna, nga ye bwe yategeka kibeere wakati mu nsi yonna. N'olwekyo Mukama, Mukama ow'eggye agamba nti, Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli, newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugololera omuggo ng'Abamisiri bwe baabakola. Kubanga akaseera kasigadde katono nnyo, obusungu bwange gyoli bukome, ate obusungu bwange budde ku bo bazikirizibwe. Mukama ow'eggye alibakuba bonna nababonereza, nga bwe yattira Abamidiyaani ku Lwazi lw'e Olebu. Era aligololera omuggo gwe ku nnyanja nga bwe yakola e Misiri. Awo olulituuka ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggibwa ku kibegabega kyo, n'ekikoligo kye kirizikirizibwa okuva mu bulago bwo. Ekikoligo kirikutulwa olw'obugevvu bwo. Laba eggye ly'omulabe lituuse liwambye Yayasi, liyise mu Miguloni, era emigugu gyabwe bagiterese e Mikumasi. Bayisizza awavvuunukirwa; basuze e Geba. Abe Laama bakankana olw'okutya. Abe Gibeya ekya Sawulo badduse. Kaaba n'eddoboozi ery'omwanguka ggwe muwala wa Gallimu! Wulira, ggwe Layisa! Nga zikusanze ggwe Anasosi! Ab'e Madumena badduse, n'ab'omu Gebimu badduse olw'okwewonya. Olwa leero omulabe ajja kusibira e Nobu, alifunya ekikonde nga akyolekeza olusozi lwa muwala wa Sayuuni, olusozi lwa Yerusaalemi. Laba, Mukama, Mukama ow'eggye, alitema amatabi n'entiisa n'abawanvu abawagguufu balitemerwa ddala, n'abagulumivu balikkakkanyizibwa. Mukama alitemera ddala ebisaka by'omu kibira n'embazzi, ne Lebanooni ne miti gyakyo egy'ekitiibwa kirigwa. Ensibuka erimera okuva ku kikonge kya Yese, n'ettabi liriroka okuva ku mirandira gye. Omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, Omwoyo ogw'amagezi n'okutegeera, Omwoyo ogw'okuteesa n'amaanyi, Omwoyo ow'okumanya era n'okutya Mukama. Essanyu lye linaabeeranga mu kutya Mukama. Taasalenga misango ng'okulaba kw'amaaso ge bwe kunaabanga, oba ng'asinziira kw'ebyo by'awulidde obuwulizi. Naye anaasaliranga abaavu emisango ng'agoberera amazima, era mu bwenkanya anaasaliranga abawombeefu abali ku nsi. Aliwa ekiragiro mu nsi abantu okubonerezebwa, era ababi balittibwa. Obutuukirivu buliba lukoba lwa mu kiwato kye, n'obwesigwa buliba lukoba lwa mu mugongo gwe. Omusege gunaasulanga wamu n'omwana gw'endiga, n'engo eneegalamiranga wamu n'omwana gw'embuzi; n'ennyana n'empologoma n'ennyana ensava binaagalamiranga wamu, n'omwana omuto yalizikulembera. Ente n'eddubu ziririiranga wamu; abaana baazo banaagalamiranga wamu. Empologoma eneeryanga omuddo ng'ente. Omwana akyayonka alizannyira ku kinnya eky'enswera, n'omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukono gwe mu kinnya omuli essalambwa. Tewalibaawo kikola bulabe wadde okuzikiriza ku Lusozi lwa Katonda Olutukuvu, kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng'ennyanja bw'ejjula amazzi. Olunaku lulituuka, asibuka mu kikolo kya Yese, aliyimirira okuba ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n'ekifo mwalibeera kiriba kya kitiibwa. Awo olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama aligolola nate omukono gwe omulundi ogwokubiri okukomyawo abasigalawo ku bantu be, ng'abaggya mu Bwasuli, mu Misiri, mu Pasuloosi, mu Kuusi, mu Eramu, mu Sinali, mu Kamasi ne mu bizinga ebiri mu nnyanja. Mukama aliwanikira amawanga bbendera, okubalaga nti alikuŋŋaanya n'aleeta wamu abo abaagobebwa mu Isiraeri ne mu Yuda, ng'abaggya mu nsonda ennya ez'ensi gye baasaasaanyizibwa. Obuggya bwa Efulayimu buliggwaawo, n'abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya, wadde Yuda okuba omulabe wa Efulayimu. Bombi wamu balirumba Abafirisuuti ebugwanjuba; balyetaba okunyaga abaana b'ebuvanjuba. Baliwangula Edomu ne Mowaabu, n'abaana ba Amoni balibagondera. Mukama alikozesa empewo ye ey'amaanyi, n'akaliza ekikono ky'ennyanja y'e Misiri. Era aligolola omukono gwe ku Mugga Fulaati, n'agwawulamu obugga musanvu, n'asomosa abantu nga tebatobye na bigere. Walibaawo oluguudo, abantu be aba Isiraeri abaasigalawo mwe baliyita nga bava mu Bwasuli, nga bwe lwaliwo eri Isiraeri ku lunaku luli nga bava mu nsi y'e Misiri. Ku lunaku olwo abantu balyogera bwe bati, “Nnaakwebaza, ayi Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo buweddewo, kaakati onzizizzaamu amaanyi.” Laba, Katonda bwe bulokozi bwange, nnaamwesiganga ne ssitya. Mukama Yakuwa ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era ye afuuse obulokozi bwange. Munasenanga n'essanyu amazzi okuva mu nzizi ez'obulokozi. Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama, mutendereze erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.” Mu muyimbire Mukama, kubanga akoze eby'ekitalo. Mubimanyise mu nsi yonna. Yogerera waggulu era oyimbire waggulu n'essanyu, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu. Omugugu gwa Babbulooni, Isaaya mutabani wa Amozi gwe yalaba Muwanike ebendera ku lusozi olw'erere, mubayimusize eddoboozi, mubawenye bayingire mu miryango egy'abakungu. Ndagidde abawonge bange, weewaawo, mpise abasajja bange ab'amaanyi babonereze abeenyumiriza n'amalala. Oluyoogaano lw'ekibiina ku nsozi, ng'olw'eggwanga eddene! oluyoogaano lw'obwakabaka, obw'amawanga nga gakuŋŋaanye! Mukama ow'eggye ateekateeka eggye olw'olutalo. Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'eggulu, Mukama mu busungu aleese eby'okulwanyisa, okuzikiriza ensi yonna. Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi; lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna. Emikono gyonna kyegiriva giggwamu amaanyi, na buli mutima gw'omuntu gulisaanuuka: era balikeŋŋentererwa; okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata; balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala: balitunulaganako nga bawuniikiridde; amaaso gaabwe nga gatangaalirira. Laba, olunaku lwa Mukama lujja, olubi ennyo, olw'ekiruyi n'obusungu; okuzisa ensi, n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu. Kubanga emmunyeenye ez'omu ggulu n'ebibiina byazo tebiryaka kwaka kwabyo: enjuba erizikizibwa ng'evaayo, n'omwezi nagwo tegulyaka. Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwayo, n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyejo eky'abalina amalala, era ndikkakkanya okwenyumiriza kw'abo abatiisa. Ndifuula abantu okuba abebbula okusinga ezaabu ennungi, omuntu okusinga ezaabu ennungi eya Ofiri. Kyendiva nkankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa okuva mu kifo kyayo, mu busungu bwa Mukama ow'eggye, ne ku lunaku olw'ekiruyi kye. Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa oba ng'endiga ezitaliiko musumba, buli muntu aliddukira eri abantu be, era buli muntu aliddukira mu nsi ye waabwe. Buli anaalabikanga anaafumitibwanga; na buli anaawambibwanga anaagwanga n'ekitala. N'abaana baabwe abawere balimenyerwamenyerwa mu maaso gaabwe; ennyumba zaabwe zirinyagibwa, n'abakazi baabwe balikwatibwa lwa maanyi. Laba, ndibaleetako Abameedi, abatalissaayo mwoyo eri effeeza, n'ezaabu nga tebasikiriza. Obusaale bwabwe bulitta abavubuka; so tebalisaasira bawere, amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato. Ne Babbulooni, ekitiibwa eky'obwakabaka, obulungi obw'amalala ag'Abakaludaaya, kiriba nga Sodoma ne Ggomola Katonda bye yasuula. Tekisulibwenga mu ennaku zonna, so tekiibeerwengamu emirembe n'emirembe: so n'Omuwalabu taasimbengayo weema; so n'abasumba tebaagalamizengayo magana gaabwe Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo; n'ennyumba zaabwe zirijjula ebintu ebisinda; ne bamaaya banaabeerangayo, n'ebikulekule binaaziniranga eyo. N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe, n'ebibe mu mbiri zaabwe; n'ekiseera kyakyo kiri kumpi okutuuka, so n'ennaku zaakyo teziryongerwako. Mukama alisaasira Yakobo, era, aliddamu okulonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo. Bannamawanga balibeegattako babeerere ddala ba mu nnyumba ya Yakobo. N'amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, n'ennyumba ya Isiraeri baliba nabo mu nsi ya Mukama okuba abaddu n'abazaana, era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga. Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwummula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza, awo oligera olugero luno ku kabaka w'e Babbulooni n'oyogera nti, “Omujoozi ng'aweddewo! ekibuga ekya zaabu nga kiweddewo! Mukama amenye omuggo ogw'ababi, omuggo ogw'obwakabaka ogw'abo abafuga; ogwakubanga amawanga n'obusungu olutata, ogwafuganga amawanga n'ekiruyi, ne gubayiggannyanga nga tewali muntu yenna aguziyiza. Ensi yonna ewummudde, era eteredde; babaguka okuyimba. Weewaawo, enfugo zikusanyukira, n'emivule egy'oku Lebanooni, nga gyogera nti, ‘Kasookedde ogalamizibwa, tewabangayo ajja kututema.’ Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng'ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab'ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga okuva ku ntebe zaabwe. Abo bonna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe! Ofaanana nga ffe! Ekitiibwa kyo kissibwa emagombe, n'eddoboozi ly'ennanga zo; envunyu zaaliiriddwa wansi wo, n'ensiriŋŋanyi zikubisseeko. Ng'ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeenye ey'enkya, omwana w'enkya! ng'otemeddwa n'ogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! Wayogera mu mutima gwo nti, ‘Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeenye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiikakkono; ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.’ Naye olissibwa emagombe, ku ntobo y'obunnya. Abo abanaakulabanga banaawunikiriranga, banaakulowoozanga, nga boogera nti, Ye wuuno eyakankanyanga ensi, eyanyeenyanga obwakabaka, Eyazisanga ensi yonna, n'asuula ebibuga byamu; ataatanga basibe be okudda ewaabwe? Bakabaka bonna ab'amawanga, bagalamidde mu kitiibwa, buli muntu mu nnyumba ye ye. Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng'ettabi erikyayibwa, ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala, abakka mu mayinja ag'obunnya; ng'omulambo ogulinnyiriddwa. Toligattibwa nabo mu kuziikibwa, kubanga wazikiriza ensi yo, n'otta abantu bo; ezzadde ly'abo abakola obubi teriryogerwako ennaku zonna. Mutegekere abaana be okuttibwa olw'obutali butuukirivu bwa bakitaabwe; baleme okugolokoka, ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga. “Nange ndibagolokokerako,” bw'ayogera Mukama ow'eggye, “ Ne mmalawo mu Babbulooni erinnya lye, n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama.” Era ndikifuula obutaka bwa namunnungu, n'ebidiba eby'amazzi: era ndikyera n'olweyo olw'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama ow'eggye. Mukama ow'eggye alayidde, ng'ayogera nti, “Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo; ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyira n'ebigere ku nsozi zange, kale ekikoligo kye kiribavaako, n'omugugu gwe guliva ku kibegabega kyabwe. Okwo kwe kuteesa okwateesebwa ku nsi yonna, era ogwo gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna. Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?” Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo omugugu guno. Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, yonna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba, kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa, n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka. N'ababereberye ab'abaavu balirya, n'abatalina bintu baligalamira mirembe; era nditta ekikolo kyo n'enjala, n'ababo abalifikkawo balittibwa. Kuba ebiwoobe, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuke, olw'entiisa ggwe Bufirisuuti, yonna! kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa. Kale balyanukulwa batya ababaka ab'eggwanga? Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira. Omugugu gwa Mowaabu. Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa kirimalibwawo. Mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu nakyo kirizikirizibwa kirimalibwawo. Abantu b'e Diboni bambuse, ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga; Mowaabu akungubagira Nebo ne Medeba. Ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata, buli kirevu kimwereddwa. Beesibye ebibukutu mu nguudo zaabwe, waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe buli muntu akuba ebiwoobe, ng'akaaba nnyo amaziga. Kesuboni ne Ereyale bakaaba, eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi; basserikale ba Mowaabu kyebaava boogerera waggulu; obulamu bwe bukankana mu nda mu ye. Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abakungu be baddukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya, kubanga awayambukirwa e Lukisi gye balinnyira nga bakaaba amaziga; kubanga bakaabira mu kkubo ery'e Kolonayimu okukaaba okw'okuzikirira. Kubanga amazzi ag'e Nimulimu galirekebwawo, kubanga omuddo guwotokedde ddala, omuddo omugonvu guggwaawo, tewali kintu kimera. Ebintu ebingi bye bafunye n'ebyo bye baterese kyebaliva babitwala eri omugga ogw'enzingu. Kubanga okukaaba kwetoolodde ensalo za Mowaabu; okukaaba kwakwo kutuuse e Yegulayimu, n'ebiwoobe bituuse e Beererimu. Kubanga amazzi ag'e Diboni gajjudde omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Diboni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, ne ku abo abalifikkawo ku nsi. Muweereze abaana b'endiga eri oyo afuga ensi, okuva e Seera ng'oyita mu ddungu, okutuuka ku lusozi lwa muwala wa Sayuuni. Kubanga olulituuka ng'ennyonyi ezaabulwako ekisu n'ezisaasaana, bwe batyo bwe baliba bawala ba Mowaabu ku misomoko gya Alunoni. Teesa ebigambo, mala omusango; fuula ekisiikirize kyo okuba ng'ekiro wakati mu ttuntu: kweka abagobeddwa; tolyamu lukwe adaagana. Muleke Abamowaabu abajja bagobebwa batuule nammwe; Mubeere ekiddukiro kyabwe mu maaso g'omunyazi, kubanga atulugunya azikiridde, okunyaga kuwedde, abajoozi bawedde mu nsi. Entebe ey'obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, era walibaawo aligituulako mu mazima, mu weema ya Dawudi; ng'asala emisango, era ng'agoberera eby'ensonga, era omwangu okukolanga eby'obutuukirivu. Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga wa malala mangi nnyo; okwemanya kwe, amalala ge n'okuvuma kwabwe, okwenyumiriza kwe tekuliimu. N'olwekyo leka Mowaabu akaabe, leka buli muntu akaabire Mowaabu. balinakuwala n'ebayongobera, olw'emigaati egya zabbibu egy'e Kirukaleseesi. Kubanga ennimiro ez'e Kesuboni ziwotoka, n'omuzabbibu ogw'e Sibuma; abakungu ab'amawanga bamenyedde ddala emiti gyagwo egyasinga obulungi; gyabuna okutuuka e Yazeri, gyatuuka mu ddungu; amatabi gaagwo gaalanda, gatukira ddala ku nnyanja. Kyennaava nkaaba amaziga nga Yazeri akaaba olw'omuzabbibu ogw'e Sibuma; nnaakutobya n'amaziga gange, ggwe Kesuboni ne Ereyale; kubanga ku bibala byo eby'ekyengera ne ku bikungulwa byo kukubiddwako olube. Essanyu n'okweyagala biweddewo, mu nnimiro engimu; ne mu nsuku z'emizabbibu temuliba kuyimba, newakubadde eddoboozi ery'okusanyuka, tewaliba musogozi alisogolera omwenge mu masogolero; nkomezza emizira gy'abasogozi. Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu ng'ennanga, ne munda yange nkaabira Kirukeresi. Awo olulituuka, Mowaabu bw'alyeyanjula, bw'alyekooya mu kifo ekigulumivu, n'ajja mu watukuvu we okusaba, tekirimuyamba. Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby'edda. Naye kaakano Mukama ayogedde nti, “ Emyaka esatu nga teginnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kya Mowaabu kirinyoomebwa awamu n'ekibiina kye kyonna ekinene; n'abo abalifikkawo baliba batono nnyo ate nga banafu ddala.” Omugugu gwa Ddamasiko. Laba, Ddamasiko, kiggiddwawo obutaba kibuga, era kiriba ntuumu eky'ebyagwa. Ebibuga bya Aloweri birekeddwawo, biriba malundiro ga bisibo, mwe binaagalamiranga nga tewali abikanga. Ekigo kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n'obwakabaka mu Ddamasiko bulivaawo, n'abalifikkawo mu Busuli; baliba ng'ekitiibwa ky'abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama ow'eggye. Awo olulituuka ku lunaku luli ekitiibwa kya Yakobo kirikendeezebwa, era alikoga. Era kiriba ng'omukunguzi bw'akuŋŋaanya eŋŋaano emera n'omukono gwe ne gukungula ebirimba; weewaawo, kiriba ng'omuntu bw'alonda ebirimba mu kiwonvu kya Lefayimu. Naye mulisigalamu ebirondebwa, ng'okukubibwa kw'omuzeyituuni bwe kubeera, ebibala ebibiri oba bisatu (3) waggulu ku busongezo obukomererayo, bina oba bitaano (5) ku busongezo bw'omuti omugimu, bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri. Ku lunaku luli abantu balirowooza, Omutonzi waabwe, n'amaaso ge galikyukira Omutukuvu owa Isiraeri. So tebalirowooza ku byoto byabwe, omulimu gw'emikono gyabwe, so tebalirowooza kw'ebyo bye bakola n'engalo zaabwe, oba ku Baasera oba ebyoto kwe bootereza obubane. Ku lunaku luli ebibuga byabwe eby'amaanyi abaana ba Isiraeri bye baabalesa, biriba ng'ebifulukwa mu kibira ne ku ntikko y'olusozi, era biriba nsiko. Kubanga weerabidde Katonda ow'obulokozi bwo, so tojjukidde lwazi lwa maanyi go; kyova osimbamu ebisimbe eby'okusanyusa, n'osigamu ebimera ebigenyi, wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw'obisimbye, enkya omerusa ensigo zo; naye ebikungulwa birikuddukako, ku lunaku olw'okunakuwaliramu era olw'okukungubagiramu. Woowe, oluyoogaano lw'amawanga amangi, agawuluguma ng'okuwuluguma kw'ennyanja; Okuwuluguma kw'amawanga, agawulukuka ng'okuwulukuka kw'amazzi ag'amaanyi! Amawanga gawuluguma ng'okuwulukuka kw'amazzi amangi naye alibanenya, nabo baliddukira wala, era baligobebwa ng'ebisusunku eby'oku nsozi mu maaso g'empewo, era ng'enfuufu ey'etooloola mu kibuyaga akunta. Akawungeezi, laba, ntiisa; era obudde nga tebunnakya nga tebaliiwo. Guno gwe mugabo gw'abo abatunyaga, era ye mpeera y'abo abatutwalako ebyaffe. Zikusanze, ggwe ensi ey'ebiwaawaatiro ebikwakwaya, eri emitala w'emigga gya Kuusi; etuma ababaka ku Kiyira, ne bagendera mu bibaya ku mazzi! Mugende, mmwe ababaka abangu, eri eggwanga eririna abantu abawanvu ab'emibiri emiweweevu, eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga ery'amaanyi era eriwangula amalala, ensi eyawulwamu emigga. Mmwe mwenna abatuula mu nsi, nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi, ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mutunulanga, era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga. Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde; ng'olubugumu olutemagana mu musana, ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu olw'omu biro eby'amakungula.” Kubanga okukungula nga tekunnabaawo, okumulisa nga kuwedde, n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengera, aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema. Gonna galirekerwa ennyonyi ez'amaddu ez'oku nsozi n'ensolo ez'ensi, era ennyonyi ez'amaddu zirigatuulako mu kyeya, n'ensolo zonna ez'ensi zirigabeerako mu ttoggo. Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye okuva mu bantu abawanvu ab'emibiri emiweweevu, n'okuva eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga ery'amaanyi era eriwangula amalala, ensi eyawulwamu emigga, ku lusozi Sayuuni, ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye. Omugugu gwa Misiri. Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo n'ajja mu Misiri; n'ebifaananyi eby'e Misiri birikankanira mu maaso ge, n'emitima gy'Abamisiri girisaanuukira munda mu bo. Era ndirwanya Abamisiri n'Abamisiri, era balirwana buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga n'ekibuga, obwakabaka n'obwakabaka. N'omwoyo gw'Abamisiri gulibaggwaamu, nditta entegeka zaabwe zonna; era baliragulwa eri ebifaananyi, n'eri abasamize, n'eri abo abaliko emizimu, n'eri abalogo. Era ndigabula Abamisiri mu mukono gw'omufuzi omukambwe; era kabaka ow'entiisa alibafuga, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye. N'amazzi ga Kiyira galikendeera, n'omugga guliweebuuka ne gukala. N'obukutu bwagwo buliwunya ekivundu, obugga bwa Kiyira e Misiri bulikeewa ne bukala, ebitoogo n'essaalu biriwotoka. Ebimera ebiri ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira, ne byonna ebyasigibwa ku Kiyira, birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala. Era n'abavubi balikungubaga ne bakaaba, n'abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira, balinakuwala, n'abo abatega obutimba mu mazzi baliggwaamu amaanyi. Era nate abo abakola omulimu ogw'obugoogwa obusunsule, n'abo abaluka engoye enjeru, balikeŋŋentererwa. Abo, empagi zaabwe balisaanyizibwawo, abo bonna abakolera empeera balinakuwala mu myoyo. Abakulu ab'e Zowani basiruwalidde ddala; n'abagezigezi ba Falaawo bateesa bya busiru. mugamba mutya Falaawo nti, “ Ndi mwana wa bagezi, omwana wa bassekabaka ab'edda?” Kale nno abasajja bo ab'amagezi bali ludda wa? era bakubuulire kaakano; era bategeere Mukama ow'eggye ky'ateesezza ku Misiri. Abakulu ab'e Zowani basiruwadde, abakulu ab'e Noofu balimbiddwa; Abo ejjinja ery'oku nsonda ery'ebika byayo, abo be bakyamizza Misiri. Mukama atadde omwoyo ogw'obubambaavu mu abo, era bakyamizza Misiri mu buli mulimu gwayo, ng'omutamiivu atagatta ng'asesema. So tewaliba mulimu gwonna gwa Misiri oguyinzika okukolebwa omutwe oba mukira, olusansa oba kitoogo. Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng'abakazi, era erikankana eritya olw'okukunkumula kw'omukono gwa Mukama ow'eggye, ogugoloddwa ku yo. N'ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anaagibuulirwangako anaatyanga, olw'okuteesa kwa Mukama ow'eggye, kw'ateesa ku yo. Ku lunaku luli waliba ebibuga bitaano (5) mu nsi y'e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, ne birirayira Mukama ow'eggye. Ekimu kiriyitibwa Kibuga kya kuzikirira. Ku lunaku luli waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y'e Misiri, n'empagi ya Mukama eriba ku nsalo yaayo. Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow'eggye mu nsi y'e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw'abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola. Era Mukama alimanyibwa Misiri, n'Abamisiri balimanya Mukama ku lunaku luli; weewaawo, balisinza ne ssaddaaka n'ekitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama, era balibutuukiriza. Era Mukama alikuba Misiri, ng'akuba era ng'awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa bo, era alibawonya. Ku lunaku luli waliba oluguudo oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n'Omwasuli alijja mu Misiri, n'Omumisiri mu Bwasuli; n'Abamisiri balisinziza wamu n'Abaasuli. Ku lunaku luli Isiraeri eriba ya kusatu wamu ne Misiri n'Obwasuli, okuba ab'omukisa wakati mu nsi: kubanga Mukama ow'eggye abawadde omukisa, ng'ayogera nti Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n'Obwasuli omulimu gw'emikono gyange, ne Isiraeri obusika bwange. Mu mwaka Talutani omuduumizi ow'okuntiko mwe yajjira e Asudodi, ng'asindikiddwa Salugoni kabaka w'e Bwasuli, n'alwana ne Asudodi n'akimenya. Mu biro ebyo Mukama n'ayogerera mu Isaaya mutabani wa Amozi, nti, “Genda osumulule ekibukutu mu kiwato kyo era oggyemu engatto yo mu bigere byo.” N'akola bw'atyo n'atambula nga talina na ngatto. Mukama n'ayogera nti, “ Ng'omuddu wange Isaaya bwe yatambula emyaka esatu nga talina ngatto mu bigere bye, okuba akabonero n'ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; bw'atyo kabaka w'e Bwasuli alitwala Abamisiri nga basibe, wamu n'ab'e Kuusi, abato n'abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, n'amakugunyu gaabwe nga tegabikkiddwako, okukwasa Misiri ensonyi. Era balikeŋŋentererwa balikwatibwa ensonyi, olwa Kuusi essuubi lyabwe, n'olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw'ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekituuse ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w'e Bwasuli! kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya? ’ ” Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja. Nga kibuyaga ow'omu bukiikaddyo bw'ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey'entiisa. Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, n'omunyazi anyaga. Yambuka, ggwe Eramu, zingiza, ggwe Obumeedi; okusinda kwonna kwe yaleeta, nkukomezza. Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala; nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋentereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba. Omutima gwange guwejjawejja, okwesisiwala kunkanze, ekiro kye nnali neegomba kifuuse gye ndi kukankana. Bategeka emmeeza, bassaawo abakuumi, balya, banywa. Mugolokoke, mmwe abakulu, musiige amafuta ku ngabo. Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky'anaalaba. era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiina ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira, awuliranga nnyo nga yeetegereza bulungi.” Omukuumi n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka nti, “Ayi Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi ku mulimu gwange. Era, laba, wajja ekitongole ky'abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu.” N'addamu n'ayogera nti, “Babbulooni kigudde, kigudde; n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bibetenteddwa wansi ku ttaka.” Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyange, ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde. Omugugu gwa Duuma. Waliwo ampita ng'ayima ku Seyiri nti, “Omukuumi, eby'ekiro bitya? Omukuumi, eby'ekiro bitya?” Omukuumi n'ayogera nti, “Bulikya era buliziba. bwe mwagala okubuuza, mubuuze, mukyuke mujje.” Omugugu oguli ku Buwalabu. Mu bisaka bya Buwalabu mwe mulisula, mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja. Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetere amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse n'emmere yaabwe. Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n'omutego ogunaanuddwa, akabi k'olutalo. Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo, n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaanyi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.” Omugugu ogw'ekiwonvu eky'okwolesebwa. Obadde otya kaakano, n'okulinnya n'olinnya, waggulu ku nnyumba. Ggwe ajjudde okuleekaana, ekibuga eky'oluyoogaano, ekibuga eky'essanyu? ababo abattibwa tebattibwa na kitala, so tebafiiridde mu ntalo. Abakufuga bonna baddukira wamu, bawambiddwa awatali kulwana, bonna abaasangibwa bakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe, newakubadde nga baali baddukira wala. Kyennava njogera nti, “Munveeko, mundeke nkabire ddala nnyo; temutegana kunsanyusa olw'okunyagibwa kw'omuwala w'abantu bange.” Kubanga Mukama ow'eggye alina olunaku olw'akatabanguko, olw'okulinnyiririrwako, era olw'okubuusizabuusizaako, mu kiwonvu eky'okwolesebwa; okumenyamenya bbugwe, n'okukaaba eri ensozi. Eramu ayambalidde omufuko gw'obusaale, wamu n'amagaali ag'abasajja n'abeebagala embalaasi; ne Kiira asabuukulula engabo. Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali, n'abeebagala embalaasi, ne batassibwa ku miryango. N'aggyawo ekibikka ku Yuda; n'otunuulira ku lunaku luli eby'okulwanyisa ebyali mu nnyumba ey'omu kibira. Ne mulaba ebituli ebyawagulwa mu kibuga kya Dawudi, nga bingi, ne mukuŋŋaanya amazzi ag'ekidiba ekya wansi. Ne mubala ennyumba ez'omu Yerusaalemi, ne mumenya amayumba okunyweza bbugwe. Mwasima ekidiba omuterekebwa amazzi ag'ekidiba eky'edda wakati wa babbugwe bombi, naye ne mutatunuulira oyo eyakisima oba okumussaamu oyo ekitiibwa eyakiteekateeka edda ennyo. Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow'eggye, n'ayita abantu okukaaba n'okukungubaga, n'okumwa ebiwalaata n'okwesiba ebibukutu; era, laba, ssanyu na kujaguza, kutta nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge. “tulye tunywe kubanga enkya tunaafa.” Mukama ow'eggye yeeyakimbikkulira n'enkiwulira nti, “ Mazima obutali butuukirivu buno tebulisonyiyibwa okutuusa lwe mulifa,” bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, nti, “Genda eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ye mukulu w'ennyumba, omugambe nti, Okola ki wano? Era ani gw'olina wano n'okutuuka n'otuuka okwetemera wano entaana, ng'otema entaana waggulu, nga ogyetemera mu lwazi? Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi gwe omusajja ow'amaanyi; weewaawo, alikunywereza ddala. Talirema kukyuka n'akukasuka ng'omupiira mu nsi engazi; eyo gy'olifiira, era eyo amagaali ag'ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z'ennyumba ya mukama wo. Nange ndikuggya mu bwami bwo, era alikussa okuva mu bukulu bwo. Awo olulituuka ku lunaku luli ndiyita omuddu wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, era ndimwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n'olukoba lwo, era ndimukwasa obuyinza bwo, era aliba kitaabwe w'abo abatuula mu Yerusaalemi n'eri ennyumba ya Yuda. Ndimukwasa era n'aba n'obuyinza ku kisumuluzo ky'ennyumba ya Dawudi, era bw'aliggulawo tewaliba aggalawo, era bw'aliggalawo tewaliba aggulawo. Era ndimukomerera ng'enninga okumunyweza mu kifo kye, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. Ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe, kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye okuva ku bukompe okutuuka ku matogero. Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama ow'eggye, enninga eyakomererwa mu kifo okumunyweza mu kifo kye erisimbuka, n'egwa, n'omugugu ogwali ku yo gulisalibwako, ekyo Mukama akyogedde.” Omugugu gwa Ttuulo. Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi, kubanga kifuuse matongo, temukyali nnyumba oba mwalo, kibabikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu. Musirike, mmwe abatuula ku lubalama lw'ennyanja, mmwe abasuubuzi b'e Sidoni; abawunguka ennyanja kwe mugaggawalidde. Era ku mazzi amangi kwajjirako ensigo za Sikoli, n'ebikungulwa bya Kiyira, bye byali amagoba ge; era oyo ye yali akatale k'amawanga. Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde, ekigo eky'ennyanja, nti, “Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala, so sinnayonsa balenzi, so sinnalera bawala.” Ebigambo bwe birituuka e Misiri, balinakuwalira nnyo ebigambo eby'e Ttuulo. Muwunguke mugende e Talusiisi; mukube ebiwoobe, mmwe abatuula ku lubalama lw'ennyanja. Kino kye kibuga kyammwe eky'essanyu ekimaze emyaka emingi era ebigere byakyo ebyakitwalanga okubudama mu bitundu eby'ewala? Ani eyateekateeka kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi? Mukama ow'eggye ye akiteesezza, okuvumisa amalala ag'ekitiibwa kyonna, okunyoomesa ab'ekitiibwa bonna ab'omu nsi. Yita mu nsi yo nga Kiyira, ggwe muwala wa Talusiisi; tewakyali lukoba lukusiba. Agolodde omukono gwe ku nnyanja, anyeenyezza obwakabaka, Mukama alagidde eby'e Kanani, okuzikiriza ebigo byamu. N'ayogera nti, “Tokyaddayo kusanyuka, ggwe muwala wa Sidoni ajoogebwa; golokoka, owunguke ogende e Kittimu; era n'eyo toliba na kuwummula.” Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu. Baazimba eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, ne baasuula amayumba gaamu era n'abazikiriza. Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi, kubanga ekigo kyammwe kizikiriziddwa. Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu (70), ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu (70) nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi. Twala ennanga otambuletambule mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabirwa; kuba bulungi ennanga, oyimbe ennyimba nnyingi, olyoke ojjukirwe. Awo olulituuka emyaka nsanvu (70) nga giweddeko, Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna. N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba bitukuvu eri Mukama, tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebirungi. Laba, Mukama alifuula ensi amatongo, agimalirewo ddala, era aligivuunika, n'asaasaanyiza ddala abagituulamu. Era olulituuka ng'abantu bwe baliba, bw'atyo kabona bw'aliba; ng'omuddu bw'aliba, bw'atyo mukama we bw'aliba; ng'omuzaana bw'aliba, bw'atyo mugole we bw'aliba; ng'omuguzi bw'aliba, bw'atyo omutunzi bw'aliba; ng'awola bw'aliba, bw'atyo eyeewola bw'aliba; ng'aweebwa amagoba bw'aliba, bw'atyo amuwa amagoba bw'aliba. Ensi erimalirwamu ddala byonna, era erinyagirwa ddala; kubanga Mukama ayogedde ekigambo ekyo. Ensi ewuubaala era neekala, ettaka liggwaamu amaanyi era likala, abantu abagulumivu ab'ensi baggwaamu amaanyi. Era ensi eyonooneddwa, abantu baayo abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo. Ekikolimo kyekyava kirya ensi, n'abo abagituulamu balabise nga gubasinze, abatuula mu nsi kyebaava bookebwa, abantu ne basigala batono. Omwenge omusu guwuubaala, omuzabbibu guyongobera, bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe. Ekinyumu eky'ebitaasa kikoma, oluyoogaano lw'abo abasanyuka luggwaawo, essanyu ery'ennanga likoma. Tebalinywa mwenge nga bayimba; ekitamiiza kirikaayirira abo abakinywa. Ekibuga eky'okwetabula kimenyesemenyese, buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu. Waliwo okukaaba mu nguudo olw'omwenge; essanyu lyonna liweddewo, ekinyumu eky'ensi kigenze. Ekibuga kisigadde kuzika, wankaaki waakyo akubiddwa n'amenyebwamenyebwa. Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde. Bano baliyimusa amaloboozi gaabwe, n'ebayimba olw'essanyu, olw'obukulu bwa Mukama nga batendereza okuva mu bugwanjuba. Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba, erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby'omu nnyanja. Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y'ensi, ekitiibwa kibeere eri omutuukirivu. Naye ne njogera nti, “Nkoozimba, nkoozimba, zinsanze! abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza; weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo.” Entiisa n'obunnya n'omutego biri ku ggwe, ggwe atuula mu nsi. Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery'entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo alinnya okuva mu bunnya omutego gulimukwata: kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo, n'emisingi gy'ensi gikankana. Ensi emenyekedde ddala, ensi esaanuukidde ddala, ensi ejjulukuse nnyo. Ensi eritagatta ng'omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng'ensiisira; n'okusobya kwayo kuligizitoowerera, era erigwa n'etegolokoka nate. Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alibonereza eggye ery'abagulumivu waggulu, ne bakabaka ab'ensi ku nsi. Era balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era alibeerayo okumala ennaku. Kale omwezi, gulikwatibwa ensonyi, n'enjuba eriswala; kubanga Mukama ow'eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi ne mu maaso g'abakadde be n'ekitiibwa. Ayi Mukama, ggwe Katonda wange; nnaakugulumizanga, nnaatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby'ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima. Kubanga ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde amatongo, ekibuga ky'abagenyi okifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna. Abantu ab'amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa, ekibuga eky'amawanga ag'entiisa kirikutya. Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri abali mu nnaku abeetaaga, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri ebbugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa kulinga kibuyaga akunta ku kisenge. Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano olw'abagenyi; ng'olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n'ekisiikirize ky'ekire, oluyimba olw'ab'entiisa lulikkakkanyizibwa. Era ku lusozi luno Mukama ow'eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey'ebya ssava, embaga ey'omwenge omuka, ey'ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey'omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi. Era alizikiririza ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna. Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abantu be alikiggya ku nsi yonna, kubanga Mukama akyogedde. Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti, “ Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga n'atulokola, ono ye Mukama, twamulindiriranga, tusanyuke tujagulize obulokozi bwe.” Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng'ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag'olubungo. Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng'awuga bw'ayanjuluza engalo ze okuwuga, era alikkakkanya amalala ge wamu n'enkwe ez'engalo ze. N'ekigo eky'olukomera oluwanvu olwa bbugwe wo akikkakkanyizza, akissizza wansi, n'akituusa ku ttaka okutuuka ne mu nfuufu. Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda: nti, “Tulina ekibuga eky'amaanyi; obulokozi bw'alissaawo okuba bbugwe n'enkomera. Mugguleewo enzigi, eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire. Onoomukuumanga mu mirembe gyo, oyo alowooleza mu ggwe: kubanga akwesiga ggwe. Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga Mukama Yakuwa lwe lwazi olutaggwaawo. Kubanga akkakkanyizza abo abatuula waggulu ekibuga ekigulumivu akissa wansi, akissa wansi okutuuka ne ku ttaka; akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu. Ebigere birikirinnyirira; ebigere by'omwavu, n'ebisinde by'oyo atalina kintu.” Ekkubo ery'omutuukirivu bugolokofu: ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw'omutuukirivu. Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo, ayi Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe. Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo munda yange gukunoonyeza ddala, kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, ababeera mu nsi bayiga obutuukirivu. Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu; mu nsi ey'obugolokofu mw'anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama. Mukama, omukono gwo guyimusibwa, naye tebagulaba, naye baliraba obunyiikivu bwo eri abantu ne bakwatibwa ensonyi; leka omuliro ogwaterekerwa abalabe gubamalewo. Mukama, oliragira emirembe gyetuli: kubanga n'okukola watukolera emirimu gyaffe gyonna. Ayi Mukama Katonda waffe, abaami abalala batufuze ggwe nga woli, naye erinnya lyo lye tunaayatulanga lyokka. Baafa, tebakyali balamu; bazikiridde, tebagolokoka nate, kyewava obajjira n'obasangulawo n'obuza okujjukirwa kwabwe kwonna. Wayaza eggwanga, ayi Mukama, wayaza eggwanga; ogulumizibwa: ogaziyizza ensalo zonna ez'ensi. Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo. Ng'omukazi ali olubuto, ebiro eby'okuzaala kwe nga binaatera okutuuka, bw'alumwa n'akaaba ng'abalagalwa; bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ayi Mukama. Twali lubuto, twalumwa, twazaala mpewo; tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi; so n'abatuula mu nsi tebagudde. Abafu bo baliba balamu; emirambo gyabwe girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng'omusulo ogw'oku makya, n'ettaka liriwandula abafu. Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, oggalewo enzigi zo, weekweke akaseera katono, okutuusa okunyiiga lwe kuliggwaawo. Kubanga, laba, Mukama ajja ng'afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw'obutali butuukirivu bwabwe; n'ensi eriggyayo musaayi ogwagiyiikako, era teriddayo kubikka ku baalyo abattibwa. Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n'ekitala kye eky'obwogi ekinene eky'amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja. Ku lunaku luli Muliyimbira olusuku lwange olulungi olw'emizabbibu. Nze Mukama ndukuuma; ndufukirira amazzi buli kaseera, ekintu kyonna kireme okulwonoonanga, ndukuuma emisana n'ekiro. Ekiruyi tekiri mu nze: singa katazamiti n'amaggwa gannumbye mu lutalo! nandigatabadde, nandigookedde wamu. Oba akwate ku maanyi gange, atabagane nange; weewaawo, atabagane nange. Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira, Isiraeri alyanya alimulisa, era alijjuza ensi yonna ebibala. Amukubye nga ye bwe yakuba abo abaamukuba? oba attiddwa ng'abo bwe battibwa be yatta? Bw'omusindika okugenda owakana naye mu kigero; amujjuludde n'okuwuuma kwe okw'amaanyi ku lunaku olw'embuyaga eziva ebuvanjuba. Obutali butuukirivu obwa Yakobo kyebuliva bulongoosebwa n'ekyo, era ekyo kye kibala kyonna eky'okuggyako ekibi kye; bw'afuula amayinja gonna ag'ekyoto ng'ebisibosibo ebisekulwasekulwa, Baasera baabwe n'ebyoto eby'okwoterezaako obubaane birisigala biyimiridde. Kubanga ekibuga ekyabangako enkomera kifuuse kifulukwa, matongo agalekeddwawo, ng'eddungu: awo ennyana w'eririira, era awo w'erigalamira n'erya amatabi gaamu. Amatabi gaamu bwe galiwotoka, galiwogolwa; abakazi balijja ne bagookya, kubanga be bantu abatalina magezi; eyabakola kyaliva alema okubasaasira, era eyababumba talibalaga kisa. Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikukuŋŋunta okuva ku mugga Fulaati, okutuuka ku kagga k'e Misiri, era mulikungulwa kinnoomu kinnoomu, mmwe abaana ba Isiraeri. Awo olulituuka ku lunaku luli ekkondeere eddene lirifuuyibwa; era balijja abo abaalibabulidde mu nsi y'e Bwasuli n'abo abaali bagobeddwa mu nsi y'e Misiri; era balisinziza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi. Zisanze engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu, n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggebwa omwenge! Laba, Mukama alina ow'amaanyi era omuzira; nga kibuyaga alimu omuzira, embuyaga ezizikiriza, ng'amazzi amangi ag'amaanyi agayanjaala ennyo, bw'atyo bw'alisuula wansi ku ttaka n'omukono. Engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu eririnnyirirwa n'ebigere; n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu, kiriba ng'ettiini erisooka okwengera ekyeya nga tekinnatuuka; oyo alitunuulira bw'aliraba nga likyali mu mukono gwe aliririra ddala. Ku lunaku luli Mukama ow'eggye aliba ngule ya kitiibwa, era aliba nkuufiira ya buyonjo, eri abantu be abalifikkawo; era aliba mwoyo gwa kusala misango eri oyo atuula ng'asala emisango, era aliba maanyi eri abo abazzaayo olutalo mu mulyango. Naye era nabo bakyamye olw'omwenge, era ekitamiiza kibawabizza; kabona ne nnabbi bakyamye olw'omwenge, omwenge gubasaanyizzaawo, bawabye olw'ekitamiiza; bakyama mu kwolesebwa, beesittala mu kusala emisango. Kubanga emmeeza zonna zijjudde ebisesemye n'empitambi, tewali kifo kirongoofu. Ani gw'aliyigiriza okumanya? Era ani gw'alinnyonnyola obubaka bwe? abo abaleseeyo okuyonka, abavudde ku mabeere? Kubanga kiba kiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunnyiriri ku lunnyiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono. Nedda, naye alyogera n'abantu bano n'emimwa emigenyi era n'olulimi olulala: be yagamba nti, “Kuno kwe kuwummula, mumuwe okuwummula oyo akooye; era kuno kwe kuweera,” naye ne bataganya kuwulira. Ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gyebali ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunnyiriri ku lunnyiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono; bagende bagwe bugazi bamenyeke bateegebwe bakwatibwe. Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma, abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi, Kubanga mwogedde nti, “Tulagaanye endagaano n'okufa, era tutabaganye n'amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby'obulimba ekiddukiro kyaffe, era twekwese wansi w'obukuusa.” Mukama Katonda kyava ayogera nti, Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja okuba omusingi, ejjinja eryakemebwa, ejjinja ery'oku nsonda ery'omuwendo omungi erinywezebwa ennyo wansi, akkiriza talyanguyiriza. Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera, n'obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza; n'omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky'obulimba, n'amazzi galyanjaala ku kifo eky'okwekwekamu. N'endagaano gye mwalagaana n'okufa erijjulukuka, so n'okutabagana kwe mwatabagana n'amagombe tekulinywera; ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kibalinnyirira wansi. Buli lwe kinaayitangamu, kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinaayitangamu emisana n'ekiro, era okutegeera obubaka buno kulireta ntiisa nsa. Kubanga ekitanda kimpi omuntu tayinza kukyegololerako; n'eky'okwebikka kimpi omuntu tayinza kukyebikka. Kubanga Mukama aligolokoka nga bwe yagolokokera ku lusozi Perazimu, alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu kiwonvu eky'e Gibyoni; akole omulimu gwe, omulimu gwe ogw'ekitalo, era atuukirize ekikolwa kye, ekikolwa kye eky'ekitalo. Kale nno temuba banyoomi, enjegere zammwe zireme okunywezebwa; kubanga n'awulira okuva eri Mukama ow'eggye ng'awa ekiragiro okuzikiriza ensi yonna. Mutege amatu muwulire eddoboozi lyange; mutegereze muwulire ebigambo byange. Omulimi alima lutata okusiga? akabala lutata n'akuba amavuunike ag'ettaka lye? Bw'amala okulittaanya lyonna, tayiwa ntinnamuti, n'asaasaanya kumino, n'asiga eŋŋaano ennyiriri ne sayiri mu kifo ekiragiddwa n'obulo ku lubibiro lwayo? Kubanga Katonda we amutegeeza bulungi, amuyigiriza. Kubanga entinnamuti teziwuulibwa na kintu kya bwogi, so ne kumino tebaginyooleranyoolerako nnamuziga w'eggaali; naye entinnamuti ziwuulibwa na muggo, ne kumino na luga. Eŋŋaano ey'omugaati bagisa busa; kubanga talimala nnaku zonna ng'agiwuula, newakubadde ng'agitambulizako nnamuziga w'eggaali lye eriwuula, n'embalaasi ze ne bwe zigisaasaanya, era tagisa. Era n'ekyo kivudde eri Mukama ow'eggye, ow'ekitalo okuteesa ebigambo, asinga bonna amagezi. Owange, Alyeri, Alyeri, ekibuga Dawudi kye yasiisirako! mugatte omwaka ku mwaka; embaga zituukire mu ntuuko zaazo: ne ndyoka nnakuwaza Alyeri, era walibaawo okukaaba n'okuwuubaala, era aliba gye ndi nga Alyeri. Era ndikusiisirako enjuyi zonna, era ndikuzingiza n'ekigo, era ndikuzimbako enkomera okwetooloola wonna. Era olikkakkanyizibwa, era olyogera ng'oyima mu ttaka, n'ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng'oli mu nfuufu; n'eddoboozi lyo liriba ng'eryoyo aliko omuzimu, nga liva mu ttaka, n'ebigambo byo biryogerwa kyama nga biva mu nfuufu. Naye ekibiina eky'abalabe bo kiriba ng'effufugge, n'ekibiina eky'ab'entiisa kiriba ng'enfuufu efuumuuka; weewaawo, kiriba kya kaseera mangu ago. Alijjirwa Mukama ow'eggye n'okubwatuka, n'ekikankano ky'ensi, n'eddoboozi eddene, n'akazimu ne kibuyaga, n'olulimi olw'omuliro ogwokya. N'ekibiina eky'amawanga gonna agalwana ne Alyeri, gonna agalwana naye n'ekigo kye, n'abamuteganya, kiriba ng'ekirooto, okwolesebwa okw'ekiro. Awo kiriba ng'omuyala bw'aloota, ng'alya naye n'azuukuka, ng'akyalina enjala, oba ng'ow'ennyonta bw'aloota, ng'anywa amazzi, naye n'azuukuka, ng'amunafu ng'alina ennyonta, bwe kityo bwe kiriba ekibiina eky'amawanga gonna agalwana n'olusozi Sayuuni. Mudde awo mwewuunye era mwesiruwaze, muzibe amaaso gammwe, Mutamiire, naye si na mwenge; mutagatte, naye si na kitamiiza. Kubanga Mukama afuse ku mmwe omwoyo ogw'otulo otungi, era azibye amaaso gammwe, mmwe bannabbi; n'emitwe gyammwe, mmwe abalaguzi, agibisseeko. N'okwolesebwa kwonna kufuuse gye muli ng'ebigambo eby'omu kitabo ekissibwako akabonero, abantu kye bawa omuntu eyayigirizibwa nga boogera nti, “Soma kino, nkwegayiridde,” n'ayogera nti, “Siyinza, kubanga kissibbwako akabonero.” Singa bamuwa ekitabo oyo ataayigirizibwa nga boogera nti, “ Soma kino, nkwegayiridde” Addamu nti, “Simanyi kusoma.” Mukama n'ayogera nti, Kubanga abantu bano bansemberera n'akamwa kaabwe, ne banzisamu ekitiibwa n'emimwa gyabwe, naye emitima gwabwe gindi wala, n'okuntya kwabwe kiragiro ky'abantu kye bayigirizibwa; kale, laba, ŋŋenda okukola omulimu ogw'ekitalo mu bantu bano, omulimu ogw'ekitalo era eky'amagero; n'amagezi g'abagezigezi baabwe galizikirira, n'okutegeera kwa bakabaka baabwe kulikwekebwa. Zibasanze abo abakka ennyo wansi okukweka Mukama okuteesa kwabwe, n'emirimu gyabwe giri mu kizikiza, ne boogera nti, “ Ani atulaba? Era ani atumanyi?” Muvuunikira ddala ebintu. Omubumbi balimwenkanya ebbumba; ekintu ekikolebwa n'okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti, “Teyankola;” oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti, “Talina magezi?” Tekyasigaddeyo kiseera kitono nnyo Lebanooni alifuusibwa ennimiro engimu, n'ennimiro engimu baligiyita kibira? Era ku lunaku luli omuggavu w'amatu aliwulira ebigambo by'omu kitabo, n'amaaso g'omuzibe galiraba okuva mu butalaba ne mu kizikiza. Era abawombeefu balyeyongera okusanyukira Mukama, n'abaavu mu bantu balisanyukira Omutukuvu owa Isiraeri. Kubanga ow'entiisa bamudibizza, n'omunyoomi akoma, n'abo bonna abagala okukola obutali butuukirivu bazikiridde; Abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya, ne batega awa obujulizi mu musango, ne basingisa omusango omutuukirivu. Mukama eyanunula Ibulayimu kyava ayogera ku nnyumba ya Yakobo nti, “Yakobo taliddayo kuswazibwa, so n'obwenyi bwe tebulisiiwuuka. Naye bw'aliraba abaana be, omulimu gw'emikono gyange, wakati mu ye, balitukuza erinnya lyange; weewaawo, balitukuza Omutukuvu owa Yakobo, era balyewuunya Katonda wa Isiraeri. Era n'abo abakyama mu mwoyo, balifuuka abategeevu, n'abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.” Zibasanze abaana abajeemu, bw'ayogera Mukama, abakola enteekateeka, naye nga si zange; Ne batta omukago naye nga si mu mwoyo gwange, balyoke bongere ekibi ku kibi; abatambula okuserengeta okugenda e Misiri, nga tebanneebuuzizzaako, okunoonya obukuumi bwa Falaawo, n'obuddukiro mu kisiikirize ky'e Misiri! Obukuumi bwa Falaawo bulifuuka ensonyi zammwe, n'obuddukiro mu kisiikirize ky'e Misiri kuliba kuswala kwammwe. Newakubadde abakulu be bali Zowani, nga n'ababaka be batuuse e Kanesi. Bonna baliswala olw'abantu abatayinza kubagasa, abatayamba newakubadde okugasa, okuggyako okubaleetera ensonyi era ekivume. Omugugu ogw'ensolo ez'omu bukiikaddyo. Bayita mu nsi ey'okulaba ennaku n'okubalagalwa, omuva empologoma enkazi n'ensajja, embalasaasa n'omusota ogw'omuliro ogubuuka, nga batikka obugagga bwabwe ku ndogoyi ento, n'ebintu byabwe ku mabango g'eŋŋamira, nga bagenda eri abantu abatagenda kubagasa. Kubanga obuyambi bwa Misiri bwa bwereere era tebugasa, kyenvudde mmuyita Lakabu atuula obutuuzi. Kale genda okiwandiikire ku kipande mu maaso gaabwe, okiteeke ne mu kitabo, kibeere obujulirwa obw'emirembe n'emirembe. Kubanga be bantu abajeemu, abaana ab'obulimba, abaana abatakkiriza kuwulira mateeka ga Mukama; abagamba abalabi nti, “Temulaba,” n'abalaguzi nti, “Temutulaguliranga bya mazima,” mutubuulire ebitusanyusa, mulagule eby'obulimba, muve mu luguudo, mukyame okuva mu kkubo, Tetwagala kuwulira ku Mutukuvu wa Isiraeri. Kyava ayogera Omutukuvu owa Isiraeri nti, “Kubanga munyoomye ekigambo kino ne mwesiga okujooga n'obubambaavu ne mwesigama okwo; obutali butuukirivu buno kyebuliva bubeera gye muli ng'ekituli ekiwagule ekyagala okugwa, ekizimba enkundi mu kisenge ekiwanvu, okumenyeka kwakyo kujja mangu ddala. Era alikimenya ng'ekintu eky'omubumbi bwe kimenyeka, ng'akimenyamenya awatali kusaasira; n'okulabika ne watalabika luggyo mu bitundu byakyo olw'okusena omuliro mu kyoto, oba olw'okusena amazzi mu kidiba.” Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti, “Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe,” mmwe temufaayo Naye ne mugamba nti, “Nedda, kubanga tuliddukira ku mbalaasi;” kyemuliva mudduka, era nti, “Tulyebagala ku z'embiro;” abalibagoberera kyebaliva babeera ab'embiro. Olukumi balidduka olw'okuboggola kw'omu; olw'okuboggola kw'abataano mulidduka, okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, era ng'ebendera eri ku kasozi. Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire, kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira. Mmwe abantu abali mu Sayuuni abatuula e Yerusaalemi, temuliddamu kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw'olimukaabirira, bwaliwulira eddoboozi ery'oku kaaba kwo, alikwanukula. Era newakubadde nga Mukama ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo. Bwonakyamiranga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira ekigambo ekikuvaako emabega nga kyogera nti, “Lino lye kkubo, litambuliremu.” Era olyonoona bifaananyi byo ebyole ebya bikibwako ffeeza, n'ebyo ebya bikibwako zaabu, olibisuulira ddala ng'ekintu ekitali kirongoofu; olibigamba nti, “Muveewo.” Era alitonnyesa enkuba olw'ensigo zo, z'olisiga mu ttaka; era n'emmere eva mu ttaka, eriba ya mugaso ate nga nnyingi. Mu nnaku ezo ente zo ziririira mu malundiro amagazi. Era ente n'endogoyi ezirima ettaka zirirya eby'okulya ebirimu omunnyo, ebyawewebwa n'olugali n'ekiwujjo. Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba emigga egikulukuta emirongooti bwe girigwa. Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu, ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw'alisibirako ekinuubule eky'abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe. Laba, erinnya lya Mukama liva wala, nga lyaka n'obusungu bwe, era nga linyooka omukka omuziyivu; emimwa gye gijjudde okunyiiga, n'olulimi lwe luli ng'omuliro ogwokya; n'omukka gwe guli ng'omugga ogwanjaala, ogutuuka ne mu bulago, okukuŋŋunta amawanga n'olugali olw'okuzikiriza, n'olukoba oluwabya luliba mu mba z'amawanga. Muliba n'oluyimba ng'olwo oluyimbibwa ekiro nga bakwata embaga entukuvu; omutima gwo guliba n'essanyu, ng'omuntu bw'agenda ng'afuuwa endere okujja ku lusozi lwa Mukama, Olwazi lwa Isiraeri. Era Mukama aliyamba abantu okuwuliriza eddoboozi lye ery'ekitiibwa, era aliraga okukka kw'omukono gwe, n'okunyiiga kw'obusungu bwe, n'olulimi lw'omuliro ogwokya n'okubwatuka ne kibuyaga n'omuzira. Olw'eddoboozi lya Mukama Omwasuli alimenyekamenyeka, bwalibakuba n'omuggo gwe. Buli Mukama lw'anamukubanga n'omuggo gwe, wanaabangawo ng'ebivuga by'ebitaasa n'ennanga, nga mukama alwana nabo mu ntalo. Kubanga Tofesi kyategekebwa okuva edda; weewaawo, kyateekerwateekerwa kabaka; akifudde kiwanvu era kigazi, kijjudde omuliro n'enku; omukka gwa Mukama, ng'omugga gwa salufa gukyasa. Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri oba okwebuuza ku Mukama! Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye, naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi ne ku bayambi baabo abakola ebitali bya butuukirivu. Abamisiri bantu buntu, so si Katonda; n'embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo. era Mukama bw'aligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesittala era n'oyo ayambwa aligwa, kale bombi balizikiririra wamu. Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋamba nti, Ng'empologoma oba empologoma ento bw'ewulugumira ku muyiggo gwayo, n'abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba, teritiisibwa na ddoboozi lyabwe, oba okukangibwa oluyoogaano lwabwe, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'alikka okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako. Ng'ennyonyi ezibuuka, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'anaakuumanga Yerusaalemi; anaakikuumanga n'akinunula, alikitaliza n'akiwonya. Mukyukire oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isiraeri. Kubanga ku lunaku luli buli omu alisuulira ddala ebifaananyi bye ebya ffeeza, n'ebifaananyi bye ebya zaabu, engalo zammwe mmwe bye zaabakolera okuba ekibi. Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali ky'abantu; n'ekitala ekitali ky'abantu kirimulya, era alidduka ekitala, n'abavubuka be balikozesebwa emirimu egy'obuwaze. N'olwazi lwe lulivaawo olw'okutya, n'abaduumizi baabwe baliduma ne baleka awo bendera y'olutalo, bw'ayogera Mukama, omuliro gwe guli mu Sayuuni n'ekikoomi kye kiri mu Yerusaalemi. Laba, kabaka alifuga mu butuukirivu, n'abalangira balifuga mu bwenkanya. Buli muntu aliba ng'ekifo eky'okwekwekamu empewo, n'ekiddukiro eri kibuyaga; ng'emigga gy'amazzi mu kifo ekikalu, ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu nsi ekooye. Olwo amaaso g'abo abalaba tegaliziba, n'amatu g'abo abawulira galiwuliriza. N'omutima gw'oyo eyeeyinula gulifuna okusalawo okulungi, n'olulimi lw'abananaagize lulisumulukuka ne boogera bulungi. Omusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa, so n'omukodo nga tebamuyita wa kisa. Kubanga omugwagwa alyogera eby'obugwagwa, n'omutima gwe gukola ebitali bya butuukirivu, okukola eby'obutatya Katonda, n'okwogera ebikyamu ku Mukama, okuleka omuyala nga takusiddwa bya kulya, n'okumalawo ow'ennyonta kyeyandinywedde. Ebintu by'omukodo bibi; akola entegeka embi okuzikiriza omwavu n'ebigambo eby'obulimba, atalina kintu ne kyasaba nga kituufu. Naye omugabi alowooza bya kugaba; era mu by'okugaba mw'alinywerera. Mugolokoke, mmwe abakazi abateefiirayo, muwulire eddoboozi lyange; mmwe abawala abawulira nga temulina kyemwetaaga, mutegere amatu ebigambo byange. Mulinakuwalira ennaku ezirisussa omwaka, mmwe abakazi abawulira nga temulina kye mwetaaga; kubanga ebikungulwa eby'emizabbibu birifa, okukungula tekulituuka. Mukankane, mmwe abakazi abateefiirayo, mukankane mmwe abawulira nga temulina kye mwetaaga; mweyambule, mubeere bwereere mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe. Mwekube mu kifuba olw'ennimiro ezaali zisanyusa, olw'emizabbibu egyabalanga. Ku nsi y'abantu bange kulimera amaggwa ne katazamiti; weewaawo, ku nnyumba zonna ez'essanyu mu kibuga eky'essanyu. Kubanga olubiri lulirekebwawo; ekibuga eky'abantu abangi kiriba kifulukwa; olusozi n'ekigo ekirengererwako biriba mpuku ennaku zonna, ssanyu lya ntulege, ddundiro lya magana; okutuusa omwoyo lwe gulitufukibwako okuva waggulu, eddungu ne lifuuka ennimiro engimu, ennimiro engimu ne bagiyita kibira. Kale obwenkanya bulituula mu ddungu, n'obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu. N'omulimu gw'obutuukirivu guliba mirembe; era obutuukirivu bulireeta obutebenkevu n'obwesige ennaku zonna. N'abantu bange balituula mu kifo eky'emirembe ne mu nnyumba ez'enkalakkalira, ne mu bifo ebiwummulirwamu eby'emirembe. Naye omuzira guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo; n'ekibuga kirisuulirwa ddala wansi. Mulina omukisa mmwe abasiga ku mabbali g'amazzi gonna, ne muleka ente n'endogoyi ne zirya nga zeeyagala. Zikusanze ggwe anyaga, so nga tonyagibwanga; era asala enkwe, so nga tebakusaliranga gwe nkwe! Bw'olireka okunyaga, n'olyoka onyagibwa; era bw'olimalira ddala okusala enkwe, ne balyoka bakusalira enkwe. Ayi Mukama, tukwatirwe ekisa; twakulindirira: beera mukono gwaffe buli nkya, era obulokozi bwaffe mu biro eby'okulabiramu ennaku. Olw'eddoboozi ery'okubwatuka amawanga gadduse; bw'osituse amawanga gasaasaanye. N'omunyago gwammwe gulikuŋŋaanyizibwa ng'akawuka bwe kakuŋŋaanya; ng'enzige bwe zigwa bwe balikugwako bwe batyo. Mukama agulumizibwa kubanga atuula waggulu; ajjuzizza Sayuuni obw'enkanya n'obutuukirivu. Era yaliba omusingi omugumu mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n'okumanya okutya Mukama bwe bugagga bwe. Laba, abazira baabwe bakaabira bweru; ababaka ab'emirembe bakaaba nnyo amaziga. Enguudo zizise, omutambuze aggwaawo; amenye endagaano, anyoomye ebibuga, tassaayo mwoyo eri abantu. Ensi ewuubaala eyongobera; Lebanooni akwatiddwa ensonyi awotoka; Saloni ali ng'eddungu; ne Basani ne Kalumeeri bawaatula. Kaakano n'agolokoka, bw'ayogera Mukama; kaakano nnaagolokoka; kaakano nnaagulumizibwa. Muliba mbuto za bisusunku, mulizaala ssubi, omukka gwammwe muliro ogulibookya. N'amawanga galiba ng'okwokya kw'ensimbi; ng'amaggwa agatemebwa agookerwa mu muliro. Muwulire, mmwe abali ewala, bye nkoze; nammwe abali okumpi mukkirize amaanyi gange. Abalina ebibi abali mu Sayuuni batidde; okukankana kugudde ku abo abatatya Katonda. Ani ku ffe alituula awamu n'omuliro ogwokya? ani ku ffe alituula awamu n'okwokya okutaliggwaawo? Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima; oyo anyooma amagoba agava mu kujooga, akunkumula engalo ze obutakwata nguzi, aziba amatu ge obutawulira musaayi, era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi; oyo ye alituula waggulu; ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja; emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira. Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe; galiraba ensi eziyimirira ewala. Omutima gwo gulifumiitiriza entiisa; ali ludda wa oyo eyabala, ali ludda wa oyo eyagera omusolo? ali ludda wa oyo eyabala ebigo? Toliraba ggwanga kkakali, eggwanga eririna enjogera enzibu gy'otoyinza kumanya; eririna olulimi olunnaggwanga lw'otoyinza kutegeera. Tunuulira Sayuuni, ekibuga eky'embaga zaffe; amaaso go galiraba Yerusaalemi nga kifo kya kutuulamu kitereevu, eweema eterijjululwa, enkondo zaayo tezirisimbulwa ennaku zonna, so tewaliba ku migwa gyayo egirikutulwa. Naye eyo Mukama alibeera naffe mu bukulu, ekifo eky'emigga emigazi n'ensulo; omutaliyita lyato erivugibwa, so n'ekyombo ekinene tekirigendamu. Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w'amateeka gyetuli, Mukama ye kabaka waffe; ye alitulokola. Emigwa gyo egisiba gisumulukuse; tebayinza kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe, tebayinza kuwanika ttanga: awo ne bagereka ebintu eby'omunyago omunene; abawenyera baatwala omunyago. N'oyo atuulamu talyogera nti, “ Ndi mulwadde,” abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe. Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu, ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu. Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n'ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna, abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa. Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiririnnya, n'ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe. N'eggye lyonna ery'omu ggulu liryabulukuka, n'eggulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula, n'eggye lyalyo lyonna liriyongobera, ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini. Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu; laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango. Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, kiriko amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi, n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume. Kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n'okutta abangi mu nsi ya Edomu. N'embogo ziriserengeta wamu nazo, n'ente wamu ne zisseddume; n'ensi yaabwe eritamiira omusaayi, n'enfuufu yaabwe erisavuwala n'amasavu. Kubanga Mukama alina olunaku olw'okuwalana eggwanga, omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni. N'emigga gyayo girifuuka lunyata, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka lunyata olw'okya. Terizikizibwa misana newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna. emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe. Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n'ekiwugulu ne nnamuŋŋoona be banaatuulanga omwo; era aligireegako omugwa ogw'okwetabula, n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu. Baliyita abakungu baayo okujja mu bwakabaka, naye tewaliba alibaayo; n'abalangira baayo bonna baliba si kintu. N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n'amatovu mu bigo byayo; era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya. N'ensolo enkambwe ez'omu ddungu zirisisinkana n'emisege, n'eya zigeye eriyitiriza ginnaayo; weewaawo, ennyonyi ey'ekiro erigwa eyo, ne yeerabira ekiwummulo. Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo; weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne. Munoonye mu kitabo kya Mukama musome; tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n'Omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza. Era abikubidde obululu, n'omukono gwe gugigabanyiza n'omugwa; binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo. Olukoola n'amatongo birijaguza; n'eddungu lirisanyuka, lirisansula ng'ejjirikiti. Lirisukkiriza okusansula, lirisanyuka n'essanyu n'okuyimba; ekitiibwa kya Lebanooni kiririweebwa, obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni; baliraba ekitiibwa kya Mukama, obulungi obungi obwa Katonda waffe. Munyweze emikono eminafu, mukakase n'amaviivi agajugumira. Mugambe abo abalina omutima omuti nti, “Mubeere n'amaanyi, temutya,” laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola. Awo amaaso g'omuzibe w'amaaso ne galyoka gazibuka, n'amatu g'omuggavu w'amatu galigguka. Awo awenyera n'alyoka abuuka ng'ennangaazi, n'olulimi lwa kasiru luliyimba; kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n'emigga mu ddungu. N'omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n'ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi; mu kifo eky'ebibe mwe byagalamiranga, muliba omuddo n'essaalu n'ebitoogo. Era eribaayo oluguudo, n'ekkubo, era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu; abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali abatambuze, weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu. Teribaayo mpologoma, so tekulirinnyako nsolo yonna ey'amaddu, tezirirabikayo; naye abaanunulibwa be baliritambuliramu; n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda biriddukira ddala. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ogw'obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n'abiwamba. Awo kabaka w'e Bwasuli n'asindika Labusake okuva e Lakisi okugenda e Yerusaalemi eri kabaka Keezeekiya ng'alina eggye eddene. N'ayimirira ku mabbali g'omukutu gw'amazzi omunene eky'engulu ku luguudo olugenda ku nnimiro y'omwozi. Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali omukulu w'ennyumba, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bafuluma okumusisinkana. Labusake n'abagamba nti Mugambe kaakano Keezeekiya nti, “Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli, nti Kiki kye weesiga? Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n'amagezi okuwangula olutalo? Ani nno gwe weesiga olyoke onjemere? Laba, weesigamye ku Misiri, omuggo ogw'olumuli olubetentefu, omuntu bwa gwesigamako gumuyingira mu ngalo ze ne guzifumita: bw'atyo bw'abeera Falaawo kabaka w'e Misiri eri abo bonna abamwesiga.” Naye bw'onoŋŋamba nti, “Twesiga Mukama Katonda waffe, si ye wuuyo Keezeekiya gwe yaggyako ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino? Kale nno kaakano, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli nange nnaakuwa embalaasi enkumi bbiri (2,000), bw'obanga ddala olina abanaazeebagala. Oyinza otya okuwangula omuduumizi asembayo obunafu mu ggye lyaffe, ne bwe weesiga Misiri olw'amagaali n'olw'abeebagala embalaasi? Era kaakano nnyambuse okutabaala ensi eno okugizikiriza awatali Mukama? Mukama yaŋŋamba nti Yambuka otabaale ensi eno ogizikirize.” Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti “Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulumanyi, so toyogera naffe mu lulimi Oluyudaaya nga abantu abali ku bbugwe bawulira.” Naye Labusake n'ayogera nti, “ Olowooza Mukama wange antumye eri mukama wo n'eri ggwe okwogera ebigambo bino? Tantumye eri abantu abatuula ku bbugwe, abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n'okunywa omusulo gwabwe?” Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi eddene mu lulimi Oluyudaaya n'ayogera nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli. Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Keezeekiya tabalimba, kubanga taliyinza kubawonya; Keezeekiya tabasigula ng'abagamba nti, ‘Mukama talirema kutuwonya; ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.’ Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti, Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lwalirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli muntu alinywa ku mazzi ag'omu kidiba kye ye, okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku z'emizabbibu. Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng'ayogera nti, Mukama alituwonya. Waliwo katonda yenna ow'amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli? Bali ludda wa bakatonda ab'e Kamasi n'e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab'e Sefavayimu? Baawonya Samaliya mu mukono gwange? Baani ku bakatonda bonna ab'ensi ezo abaawonya ensi zaabwe mu mukono gwange, olwo Mukama alyoke awonye Yerusaalemi mu mukono gwange?” Naye bo ne basirika ne batamwanukula kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kiti nti, “ Temumwanukulanga.” Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake. Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza engoye ze n'ayambala ebibukutu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama. N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti, “Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye tewali maanyi ga kubazaala. Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, eyatumibwa kabaka w'e Bwasuli okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n'amunenya olw'ebigambo by'awulidde; kale waayo okusaba olw'e ekitundu ekikyasigaddewo.” Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya. Isaaya n'abagamba nti, “Mugambe mukama wammwe nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde, abaddu ba kabaka w'e Bwasuli bye banvumye. Laba, ndimusaamu omwoyo awulire olugambo addeyo mu nsi ye, era eyo gye ndimuttira n'ekitala mu nsi ye.’ ” Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde nti avudde e Lakisi. Ate era n'awulira nga boogera nti Tiraka kabaka w'e Kuusi, azze okumulwanyisa. Awo bwe yakiwulira n'atuma ababaka eri Keezeekiya ng'ayogera nti “Mugambe Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli. Laba, owulidde bakabaka b'e Bwasuli bye baakolanga ensi zonna, nga bazizikiririza ddala, mwe munaawona? Amawanga bakitange ge baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n'abantu ba Edeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago baagayamba? Ali ludda wa kabaka w'e Kamasi ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu, ow'e Keena ne Yiva?” Keezeekiya n'aggya ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama n'agyanjululiza mu maaso ga Mukama. Keezeekiya ne yeegayirira Mukama ng'ayogera nti, “ Ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka afuga obwakabaka bwonna obw'omu nsi, ggwe wakola eggulu n'ensi. Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire; zibula amaaso go, ayi Mukama, olabe, owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu, by'aweerezza okuvuma Katonda omulamu. Mazima, Mukama, bakabaka b'e Bwasuli baazisa amawanga gonna n'ensi zaago, ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo za bantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. Kale nno kaakano, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka.” Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: “Omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja akunyoomye era akusekeredde. omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe. Ani gw'ovumye gw'ovvodde? era ani gw'oyimusirizzaako eddoboozi lyo n'omukanulira n'amaaso? Mutukuvu wa Isiraeri. Okozesezza abaddu bo okuvuma Mukama n'oyogera nti N'amagaali gange amangi nnyambuse ku ntikko y'olusozi, ntuuse mu njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu, n'enfugo zaako ezisinga obulungi: era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo, ekibira eky'ennimiro ye engimu. Nsimye enzizi, era nnywedde amazzi, era nnakaliza emigga gyonna egy'e Misiri n'ebigere byange. Towuliranga bwe nnakikola edda ennyo ne nkibumba okuva ebiro eby'edda? kaakano nkituukirizza ggwe okubeera omuzikiriza w'ebibuga ebiriko enkomera obifuule ebifunvu eby'ebyagwa. Abaabituulangamu kyebaava babeera ab'amaanyi amatono, baatekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu nnimiro era ng'omuddo omubisi, ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, era ng'omusiri gw'eŋŋaano nga tennakula. Naye mmanyi bw'otuula era bw'ofuluma era bw'oyingira era bw'onneesalirako akajegere. Kubanga onneesalirako akajegere era kubanga ettitimbuli lyo lintuuseko, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu.” Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti, “Kano ke kabonero gy'oli, mu mwaka guno munaalya eŋŋaano eyeemeza yokka, ne mu mwaka ogwokubiri era eyeemeza yokka. Mu mwaka ogwokusatu mulirya ebyo bye musize, era ne mukungula mu nsuku zammwe ez'emizabbibu. Ekitundu ekisigaddewo ku nnyumba ya Yuda balisimba emirandira wansi ne babala ebibala waggulu. Mu Yerusaalemi mulibamu abalisigalawo, ne ku lusozi Sayuuni walibaayo abaliwona, obumalirivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo. Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti, Talituuka mu kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumaako kifunvu. Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka mu kibuga kino, bw'ayogera Mukama. Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze era ne ku bw'omuddu wange Dawudi.” Awo malayika wa Mukama n'afuluma n'atta mu lusiisira olw'Abaasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano (185,000). Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. Awo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'avaayo n'agenda n'addayo, n'abeera e Nineeve. Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu kiggwa kya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n'ekitala, ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n'amuddira mu bigere. Mu nnaku ezo Keezeekiya n'alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa, so togenda kulama.” Awo Keezeekiya n'akyuka n'atunuulira ekisenge ne yeegayirira Mukama n'ayogera nti, “Jjukira kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi.” Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Isaaya nti “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go, laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano (15). Era ndikuwonya ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli, era ndirwanirira ekibuga kino. Era kano ke kanaaba akabonero k'onoofuna okuva eri Mukama nga Mukama alikola ekigambo kino ky'ayogedde. Laba, nzijja kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi (10) enjuba bw'eneeba egwa, ky'eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw'etyo enjuba n'edda emabega amadaala kkumi (10) ku madaala ge yali ekkiddeko. Ekiwandiiko kya Keezeekiya kabaka wa Yuda, kye yawandiika nga awonye obulwadde. N'ayogera nti, “Mu ttuntu ly'ennaku zange mwe ndigendera mu miryango gy'emagombe, Nzigiddwako emyaka gyange egisigaddeyo. N'ayogera nti, Siriraba Mukama, mu nsi y'abalamu. Siriraba bantu nate mu nsi mwe batuula. Ebiro byange bivuddewo, era binzigiddwako ng'eweema ey'omusumba; Nzinze obulamu bwange ng'omulusi w'engoye; alinsala ku muti ogulukirwako: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala. Nkabira obuyambi okukeesa obudde, ng'empologoma, bw'amenya bw'atyo amagumba gange gonna; Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala. Ng'akataayi oba ssekanyolya, bwe ntyo bwe nnawanjaga; Nnempuubaala nga kaamukuukulu; amaaso gange gafuuyirira olw'okulalama; Ayi Mukama, njoogebwa; ggwe beera muyima wange. Naayogera ntya? Yayogedde nange era ye yennyini ye akikoze: Nnaatambulanga mpola emyaka gyange gyonna olw'okubalagalwa kw'obulamu bwange. Ayi Mukama, olw'ebyo abantu baba balamu, Era mu ebyo mwokka mwe muli obulamu bw'omwoyo gwange; Kale mponya onnamye. Laba, olw'emirembe gyange kyennava mbalagalwa ennyo; Naye ggwe olw'okwagala obulamu bwange obuwonyezza mu bunnya obuvundirwamu; Kubanga osudde ebibi byange byonna emabega wange. Kubanga amagombe tegayinza kukutendereza, okufa tukuyinza kukusuuta Abo abakka mu bunnya tebayinza kusuubira mazima go. Omulamu, omulamu ye alikutendereza nga nze bwe nkola leero Kitaabwe alitegeeza abaana amazima go. Mukama yeeteeseteese okundokola, Kyetunaavanga tuyimbira ku bivuga eby'enkoba Ennaku zonna ez'obulamu bwaffe mu nnyumba ya Mukama.” Era Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky'ettiini bakisiige ku jjute, awone.” Ne Keezeekiya yali abuuzizza nti, “ Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne nyambuka mu nnyumba ya Mukama?” Awo mu kiseera ekyo, Merodakubaladani mutabani wa Baladani, kabaka w'e Babbulooni, n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira nga yali alwadde era ng'awonye. Keezeekiya n'abasanyukira, n'abalaga ennyumba ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza ne zaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi, n'ennyumba yonna ey'eby'okulwanyisa bye. Tewaali kya bugagga ekyali mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga. Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti, “Abasajja bano boogedde ki? Era baava wa okujja gy'oli?” Keezeekiya n'amuddamu nti, “Bava mu nsi ey'ewala e Babbulooni.” Awo n'amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” Keezeekiya n'addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.” Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti, “Wulira ekigambo kya Mukama ow'eggye. Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babbulooni, tewaliba kintu ekirisigalawo, bw'ayogera Mukama. N'abamu ku batabani bo, b'ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w'e Babbulooni ne balaayibwa.” Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi,” kubanga yalowooza nti, “kasita emirembe n'obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.” “Musaasire, musaasire abantu bange,” bw'ayogera Katonda wammwe. Mwogere eby'okusaasira Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze ziweddewo, n'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna. Eddoboozi liwulirwa waggulu Mu lukoola nti, “Mulongoose ekkubo lya Mukama, mutereeze olugendo lwa Katonda waffe mu ddungu. Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n'akasozi birikkakkanyizibwa; n'obukyamu buligololwa, n'ebifo ebitali bisende biritereezebwa. n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.” Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti, “N'ayogerera ki waggulu?” Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋaanga ekimuli eky'omu nnimiro. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako; mazima abantu muddo. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna. Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, “ Katonda wammwe!” Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi, n'omukono gwe gulimufugira, laba empeera ye eri naye, n'okusasula kwe kuli mu maaso ge. Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa. Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n'apima eggulu n'oluta, n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera, n'apima ensozi mu minzaani n'obusozi mu kipima? Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo gwa Mukama, oba eyamuweerera ebigambo n'amuyigiriza? Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ery'amazima, n'amunnyonnyola okumanya, n'amulaga ekkubo ery'okutegeera? Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'efuufu eri ku minzaani, laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo. Ne Lebanooni tamala kuba nku, so n'ensolo zaako tezimala kuba ekiweebwayo ekyokebwa. Amawanga gonna galinga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya. Kale ani gwe mulifaananya Katonda? oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako? Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n'akifumbira emikuufu egya ffeeza. Ayinze obwavu n'okuyinza n'atayinza kirabo ekyenkana awo yeeroboza omuti ogutalivunda; yeenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba ekifaananyi ekyole, ekitalijjulukuka. Temunnamanya? Temunnawulira? temubuulirwanga okuva ku lubereberye? temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi? Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n'abagituulamu bali ng'amayanzi; atimba eggulu ng'eggigi, era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu: afuula abalangira obutaba kintu; afuula abalamuzi b'ensi okuba ebirerya. Weewaawo, tebasimbibwanga; weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mirandira mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku. Kale ani gwe mulinfaananya nze okumwenkana? Bw'ayogera Omutukuvu. Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe; ani eyatonda ebyo byonna? afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabyo bwe guli; byonna abituuma amannya; olw'obukulu bw'obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako. Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n'ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n'omusango gwange guyise ku Katonda wange? Tonnamanya? Tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w'enkomerero z'ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka. Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n'abalenzi baligwira ddala; naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika. Musirike mu maaso gange, mmwe ebizinga, amawanga gaddemu obuggya amaanyi gaabwe; basembere; balyoke boogere; tusembere wamu eri omusango. Ani ayimusizza omuntu ava ebuvanjuba, gw'ayita mu butuukirivu okujja ku kigere kye? agaba amawanga mu maaso ge, era amufuza bakabaka; abawa ekitala kye ng'enfuufu, ng'ebisasiro ebikuŋŋunsibwa eri omutego gwe. Abagoba n'ayitawo mirembe; ayita mu kkubo ly'atayitangamu n'ebigere bye. Ani eyakireeta eyakikola, ng'ayita emirembe okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow'olubereberye era ow'enkomerero, nze wuuyo. Ebizinga byalaba ne bitya; enkomerero z'ensi zaakankana; baasembera ne bajja. Baayamba buli muntu muliraanwa we; buli muntu n'agamba muganda we nti, “Guma omwoyo.” Awo omubazzi n'agumya omwoyo omuweesi wa zaabu, n'oyo ayoyoota n'akayondo n'agumya oyo akuba ku luyijja, ng'ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Kirungi;” n'akikomerera n'enninga kireme okusagaasagana. Naye ggwe, Isiraeri, omuddu wange, Yakobo gwe nnalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange; gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo, ne nkugamba nti, “ Ggwe muddu wange, nnakulonda so sikusuulanga; totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo, nnaakuwanga amaanyi; weewaawo, nnaakuyambanga; weewaawo, nnaakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange. Laba, abo bonna abakusunguwalidde balikwatibwa ensonyi baliswazibwa; abo abawakana naawe baliba nga si kintu era balibula. Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza; abo abaakuwanyisanga baliggwaamu ensa. Kubanga nze Mukama Katonda wo nnaakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti, Totya; nze nnaakuyambanga. Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo, nammwe abasajja ba Isiraeri; nze nnaakuyambanga, bw'ayogera Mukama, era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo. Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula ekiggya eky'obwogi ekirina amannyo; ggwe oliwuula ensozi, n'oziseera ddala, n'ofuula obusozi okuba ng'ebisusunku. Oliziwujja, empewo n'ezifuumuula, embuyaga ez'akazimu ne zizisaasaanya; naawe olisanyukira Mukama, olyenyumiririza mu Mutukuvu wa Isiraeri. Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka. Ndizibikula emigga ku busozi obutaliko kantu, n'ensulo wakati mu biwonvu; ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi. Ndisimba mu lukoola omuvule n'omusita n'omumwanyi n'omuzeyituuni; nditeeka mu ddungu enfugo n'omuyovu ne namukago wamu; balabe, bamanye, balowooze, bategeere wamu ng'omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, era nga Omutukuvu wa Isiraeri ye akitonze. Muleete ensonga yammwe, bw'ayogera Mukama; mwolese ensonga zammwe ez'amaanyi, bw'ayogera Kabaka wa Yakobo. Bazireete, batubuulire ebigenda okubaawo; mubuulire ebyasooka okubaawo bwe biri, tubirowooze tutegeere enkomerero yaabyo ey'oluvannyuma; oba mutulage ebigenda okujja. Mubuulire ebigambo ebijja okubaawo oluvannyuma, tulyoke tutegeere nga muli bakatonda; weewaawo, mukole obulungi oba mukole obubi tukeŋŋentererwe tukirabire wamu. Laba, temuliiko gye muva, so n'omulimu gwammwe teguliiko gye guva; oyo abalonda wa muzizo. Nnyimusizza omuntu ava obukiikakkono era atuuse; okuva ebuvanjuba omuntu ayita erinnya lyange; Alirinnyirira abafuzi ng'asamba ettaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba. Ani eyakibuulira okuva ku lubereberye tulyoke tumanye? era mu biro eby'edda tulyoke twogere nti, Mutuufu? Tewali n'omu yakyogerako, tewali n'omu yakimanya, weewaawo, tewali awulira ebigambo byammwe. Ndisooka okugamba Sayuuni nti Balabe, balabe; era ndiwa Yerusaalemi omuntu aleeta ebigambo ebirungi. Era bwe ntunula, tewali muntu; mu bo bennyini temuli ateesa ebigambo, ayinza okwanukula ekigambo bwe mbabuuza. Laba, bo bonna temuli nsa! Bye bakola byonna tebigasa. ebifaananyi byabwe ebyole mpewo na kwetabula.” Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira; ntadde omwoyo gwange ku ye; alireeta obwenkanya eri amawanga. Talireekaana oba okuyimusa eddoboozi lye, oba okuliwuliza mu luguudo. Olumuli olubetentefu talirumenya so n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza, mu bwesigwa alireeta obwenkanya. Taliremererwa oba okuggwamu essuubi okutuusa lw'alisaawo obwenkanya mu nsi; n'ebizinga biririndirira amateeka ge. Bw'atyo bw'ayogera Katonda Mukama, eyatonda eggulu n'alibamba; eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko n'omwoyo abo abagitambulako: Nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, ndikukwata ku mukono era nnaakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga; okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera. Nze Mukama; eryo lye linnya lyange; n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newakubadde ettendo lyange eri ebifaananyi ebyole. Laba, ebyasooka okubaawo bituuse, n'ebiggya mbibuulira; nga tebinnaba kulabika mbibabuulira. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, n'ettendo lye okuva ku nkomerero y'ensi; mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu, ebizinga n'ababibeeramu Eddungu n'ebibuga byamu biyimuse eddoboozi lyabyo, ebyalo Kedali mw'atuula; abatuula mu Seera bayimbe, leka baleekaanire waggulu nga basinziira ku ntikko z'ensozi. Bamuwe Mukama ekitiibwa, era babuulire ettendo lye mu bizinga. Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi; ng'omutabazi alijja yeeswanta, n'okuleekaana ng'alangirira olutalo. Era aliwangula abalabe be. Ebbanga ggwanvu nga nsirise nga siriiko kye ŋŋamba, nnabeerera awo ne nzibiikiriza; kaakano n'ayogerera waggulu ng'omukazi alumwa okuzaala; nnaawejjawejja nga nzisa ebikkowe. Ndizikiriza ensozi n'obusozi, ne mpotosa emiddo gyako gyonna; era ndifuula emigga ebizinga ne nkaliza ebidiba. Era ndikulembera abazibe b'amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa; ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n'ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka. Balikyusibwa okudda emabega, balikwatibwa ensonyi nnyingi, abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebisaanuuse nti, “Mmwe muli bakatonda baffe.” Muwulire, mmwe abaggavu b'amatu; mutunule, mmwe abazibe b'amaaso, mulyoke mulabe. Ani omuzibe w'amaaso wabula omuweereza wange oba omuggavu wa matu wabula omubaka wange gwe ntuma? ani omuzibe w'amaaso ng'oyo eyatabagana nange oba omuzibe w'amaaso ng'omuweereza wa Mukama? Olaba bingi naye teweetegereza; amatu ge gagguse naye tawulira. Mukama yasiima, olw'obutuukirivu bwe, okukuza amateeka n'okugassaamu ekitiibwa. Naye bano be bantu abaanyagibwa ne batemulwa bo bonna bateegebwa mu bunnya, era bakwekeddwa mu nnyumba ez'amakomera; bafuuka munyago nga tewali abanunula, bafuuliddwa abanyage so tewali ayogera nti, “Bateebwe.” Ani ku mmwe anaategera ekyo okutu? anaategereza n'awulira olw'ebiro ebigenda okujja? Ani eyawaayo Yakobo omunyago ne Isiraeri eri abanyazi? Si Mukama? Oyo gwe twayonoona, so tebaaganya kutambulira mu makubo ge, so tebaagondera mateeka ge. Kyeyava amufukako ekiruyi eky'obusungu bwe n'amaanyi ag'entalo; ne kimwokya enjuyi zonna era teyamanya; era kyamusonsomola, era teyakissaako mwoyo. Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti, “Totya, kubanga nkununudde, nakuyita erinnya lyo, oli wange. Bw'onooyitanga mu mazzi, nnaabeeranga naawe; ne mu migga, tegirikusaanyawo; bw'onootambulanga okuyita mu muliro, toosiriirenga; so n'omuliro tegulyakira ku ggwe. Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo, Omutukuvu wa Isiraeri, omulokozi wo; n'awaayo Misiri okuba ekinunulo kyo, Kuusi ne Seba ku lulwo. Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange, era wa kitiibwa, nange nnakwagala; kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo n'amawanga ku lw'obulamu bwo. Totya; kubanga nze ndi wamu naawe; ndireeta ezzadde lyo okuliggya ebuvanjuba ne nkukuŋŋaanya okuva ebugwanjuba; ndigamba obukiikakkono nti, Waayo b'olina; n'obukiikaddyo nti, Tobagaanira; leeta batabani bange okuva ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi; buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; gwe nnabumba, gwe nnatonda.” Fulumya abo abalina amaaso naye nga bazibe, abaggavu b'amatu abalina amatu. Amawanga gonna gakuŋŋaanyizibwe wamu n'abantu bajje; ani ku bo ayinza okubuulira ekyo n'atulaga ebyasooka okubaawo? Leka baleete abajulizi baabwe okukakasa nti baali batuufu, oba abawulira bagambe nti, “ Bya mazima.” Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, n'omuweereza wange gwe nnalonda; mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra. Nze, nze mwene, nze Mukama; so tewali mulokozi wabula nze. Nze n'abuulira era n'alokola era n'alaga, so tewabanga mu mmwe katonda mulala; kye mubeeredde abajulirwa bange, bw'ayogera Mukama. Weewaawo, okuva mu nnaku ez'edda, Nze nzuuyo; so tewali ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange; Bwe nkola omulimu, ani okuguziyiza? Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Ku lwammwe n'atuma e Babbulooni, era ndibaserengesa bonna ng'abadduse, be Bakaludaaya, mu byombo eby'okusanyuka kwabwe. Nze ndi Mukama, Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isiraeri, Kabaka wammwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, akuba oluguudo mu nnyanja n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi; afulumya eggaali n'embalaasi, eggye n'obuyinza; bagalamira wamu, tebaligolokoka; bazikiridde, bazikidde ng'enfuuzi; nti Temujjukira ebyasooka okubaawo, so temulowooza bigambo bya dda. Laba, nkola ekintu ekiggya; kaakano kitandise okulabika, temukiraba? ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu. Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa, ebibe ne bamaaya; kubanga ngaba amazzi mu lukoola n'emigga mu ddungu, okunywesa abantu bange, abalonde bange; abantu be nneebumbira nzekka boolesenga ettendo lyange. Naye tonkaabiranga, ggwe Yakobo; naye wantamwa, ggwe Isiraeri. Tondeetedde ndiga ez'ebiweebwayo ebyokebwa; so tonzisaamu kitiibwa na ssaddaaka zo. Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo, wadde okukukooya n'obubaane. Tonguliranga mmuli mpoomerevu na ffeeza, so tonzikusanga na masavu ga ssaddaaka zo; naye ggwe onkoyesezza n'ebibi byo, n'onteganya n'obutali butuukirivu bwo. Nze, nze mwene, nze nzuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo. Njijukiza; tuwoze ffembi; leeta ensonga yo olyoke oweebwe obutuukirivu. Kitaawo eyasooka yayonoona n'abawolereza bo bansobya. Kyendiva nswaza abakulu ab'omu watukuvu, era ndiwaayo Yakobo okuzikirizibwa ne Isiraeri okuswazibwa. Naye kaakano wulira, ggwe Yakobo omuweereza wange, ne Isiraeri gwe nnalonda! bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakukola n'akubumba okuva mu lubuto, anaakuyambanga, nti, Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; naawe Yesuluni gwe nnalonda. Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka eririna ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu; ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo: era baliroka mu muddo ogumeze awali amazzi, ng'enzingu ku mabbali g'emigga. Walibaawo agamba nti, “Nze ndi wa Mukama;” n'omulala alyetuuma erinnya lya Yakobo; n'omulala aliwandiika ku mukono gwe nti wa Mukama, ne yeetuuma erinnya lya Isiraeri. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa nkomerero; so tewali Katonda wabula nze Era ani afaanana nga nze? Akirangirire, leka akintegeeze, Ani yalangirira okuva edda ebyo ebinaabaawo? Kale batubuulire ebinaabaawo Temutya so temutekemuka; ssaakirangirira ne ntegeeza ebigenda okubaawo? Nnammwe muli bajulirwa bange. Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Tewali Lwazi; nze sirina lwe mmanyi. Abo abakola ebifaananyi ebyole bonna tebaliimu nsa; n'ebintu byabwe ebibasanyusa okukola tebirina kye bigasa; n'abajulirwa baabwe tebalaba so tebamanyi; balyoke bakwatibwe ensonyi. Ani eyakola katonda oba eyasaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kigasa? Laba, banne bonna balikwatibwa ensonyi; n'abakozi nabo bantu buntu; bonna bakuŋŋaanyizibwe wamu, bayimirire; balitya balikwatirwa wamu ensonyi. Omuweesi ng'aweesa embazzi n'agiyisa mu manda n'agisennyenta n'ennyondo n'agisaaza n'omukono gwe ogw'amaanyi: weewaawo, ng'alumwa enjala amaanyi ge ne gaggwaawo; nga tanywa ku mazzi n'ayongobera. Omubazzi ng'aleega omugwa; ng'akiramba n'ekkalaamu; ng'akisaanya n'eranda n'akiramba kyonna n'ekyuma ekigera, n'akifaananya ekifaananyi ky'omuntu, ng'obulungi bw'omuntu bwe buli, okutuulanga mu nnyumba. Nga yeetemera emivule n'atwala enzo n'omuyovu, era yeenywerezaako ogumu ku miti egy'omu kibira: ng'asimba enkanaga enkuba n'egimeza. Awo eriba ya nku eri omuntu; n'agitwalako n'ayota; weewaawo, ng'agikoleeza n'ayokya omugaati: weewaawo, ng'akola katonda n'akisinza; ng'akola ekifaananyi ekyole n'akivuunamira. Ekitundu kyakyo ng'akyokya mu muliro; ku kitundu kyakyo kw'aggya okulya ennyama; ng'ayokya njokye n'akkuta: weewaawo, ng'ayota n'ayogera nti Owa, mbugumye, ndabye omuliro: n'ekitundu kyakyo ekifisseeko ng'akifuula katonda, ekifaananyi kye ekyole: ng'akivuunamira n'asinza n'akyegayirira n'ayogera nti Mponya; kubanga ggwe katonda wange. Tebamanyi so tebalowooza: kubanga azibye amaaso gaabwe n'okuyinza ne batayinza kulaba; n'emitima gyabwe n'okuyinza ne batayinza kutegeera. So tewali ajjukira, so tewali kumanya newakubadde okutegeera n'okwogera n'ayogera nti Ekitundu kyakyo nkyokezza mu muliro, weewaawo, era nsiise omugaati ku manda gaakyo; njokezza ennyama ne ngirya: ate ekitundu kyakyo ekifisseeko n'akifuula eky'omuzizo? N'avuunamira ekisiki ky'omuti? Alya evvu: omutima ogwalimbibwa gumukyamizza n'okuyinza n'atayinza kuwonya bulamu bwe newakubadde okwogera nti Eky'obulimba tekiri mu mukono gwange ogwa ddyo? Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo; naawe Isiraeri, kubanga ggwe muweereza wange; nze nnakubumba; ggwe muweereza wange; ggwe Isiraeri, sirikwerabira. Njezeewo ebyonoono byo ne bivaawo ng'ekire, n'ebibi byo ne bivaawo ng'olufu; komawo gye ndi; kubanga nnakununula. Yimba, ggwe eggulu, kubanga Mukama ye akikoze; mwogerere waggulu, mmwe enjuyi eza wansi ez'ensi; mubaguke okuyimba, mmwe ensozi, ggwe ekibira na buli muti ogulimu! kubanga Mukama yanunula Yakobo era alyegulumiriza mu Isiraeri. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, era eyakubumba okuva mu lubuto, Nze Mukama akola byonna; abamba eggulu nzekka; ayanjuluza ensi; ani eyali awamu nange? atta obubonero obw'abalimba era afuula abalogo abasirusiru; akyusa abagezigezi okudda emabega, n'amagezi gaabwe okuba obusirusiru; anyweza ekigambo eky'omuweereza we n'atuukiriza okuteesa kw'ababaka be; ayogera ku Yerusaalemi nti, “Kirituulwamu;” ne ku bibuga bya Yuda nti, “Birizimbibwa,” nange ndizzaawo ebifo byamu ebyazika; agamba obuziba nti Kalira, nange ndikaliza emigga; ayogera ku Kuulo nti, “Musumba wange, era alituukiriza bye njagala byonna;” n'okwogera ne njogera ku Yerusaalemi nti, “ Kirizimbibwa;” era agamba Yeekaalu nti, “Omusingi gwo gulizimbibwa.” Bw'atyo Mukama bw'agamba oyo gwe yafukako amafuta, Kuulo, gwe nkutte ku mukono gwe ogwa ddyo, okujeemula amawanga mu maaso ge, era ndisumulula ebiwato bya bakabaka; okuggulawo enzigi mu maaso ge ne ziwankaaki teziriggalwawo; ndikukulembera ne ntereeza ebifo ebitali bisende; ndimenyaamenya enzigi ez'ebikomo ne ntemaatema ebisiba eby'ebyuma; era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda wa Isiraeri, akuyita erinnya lyo. Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isiraeri omulonde wange; kyenvudde nkuyita erinnya lyo, nkutuumye erinnya newakubadde nga tommanyanga. Nze Mukama so tewali mulala; tewali Katonda wabula nze; ndikusiba olukoba, newakubadde nga tommanyanga, balyoke bamanye okuva ebuvanjuba n'okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze; nze Mukama so tewali mulala. Nze nnassaawo omusana era ntonda ekizikiza; ndeeta emirembe era ntonda obubi; nze Mukama akola ebyo byonna. Ggwe eggulu, tonnyesa okuva waggulu, n'ebbanga littulukuse obutuukirivu; ensi eyasame, baggyeemu obulokozi, emeze obutuukirivu wamu; nze Mukama nnagitonda. Zisanze oyo awakana n'Omukozi we! oluggyo mu ngyo ez'ensi! Ebbumba lirigamba oyo alibumba nti Okola ki? Oba omulimu gwo guligamba nti, “ Talina ngalo?” Zimusanze oyo agamba kitaawe nti, “Ozaala ki?” Oba omukazi nti, “ Olumwa kuzaala ki?” Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri era Omutonzi we, nti, “ Muyinza okumbuuza ebigambo ebigenda okujja; ebya batabani bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy'emikono gyange?” Nnakola ensi ne ntondera abantu mu yo; emikono gyange gyennyini gye gya bamba eggulu, era ne ndagira eby'omu bbanga byonna okutondebwa. Mmugolokosezza mu butuukirivu, era ndigolola amakubo ge gonna, alizimba ekibuga kyange, era aliteera ddala abantu bange abawaŋŋangusibwa, si lwa muwendo so si lwa mpeera, bw'ayogera Mukama ow'eggye. Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Omulimu gwe Misiri n'obuguzi bw'e Kuusi n'Abasabeya, abasajja abawanvu, balikusenga ne baba babo; balikugoberera; nga bali mu masamba balisenga; era balikuvuunamira balikwegayirira nga boogera nti, “Mazima Katonda ali mu ggwe; so tewali mulala, tewali Katonda mulala.” Mazima ggwe Katonda eyeekweka, ggwe Katonda wa Isiraeri, Omulokozi. Balikwatibwa ensonyi, weewaawo, baliswala, bonna: baligendera wamu mu kuswala abakola ebifaananyi. Naye Isiraeri alirokolebwa Mukama n'obulokozi obutaliggwaawo; temuukwatibwenga nsonyi temuuswalenga emirembe n'emirembe. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama eyatonda eggulu; ye Katonda; eyabumba ensi n'agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala. Ssoogereranga mu kyama, mu kifo eky'omu nsi ey'ekizikiza; sigambanga zzadde lya Yakobo nti Munnoonyeze bwereere: nze Mukama njogera mazima, mbuulira ebigambo bya nsonga. Mwekuŋŋaanye mujje; musembere wamu, mmwe abawonye ku mawanga! tebalina magezi abasitula omuti ogw'ekifaananyi kyabwe ekyole ne beegayirira katonda atayinza kulokola. Mubuulire era muleete ensonga zammwe; muteeseze wamu. Ani eyalanga ekyo okuva mu biro eby'edda? ani eyakibuulira okuva edda? si nze Mukama? so tewali Katonda mulala wabula nze; Katonda omutuukirivu era omulokozi; tewali mulala wabula nze. Mutunuulire nze, mulokoke, mmwe enkomerero zonna ez'ensi: kubanga nze Katonda so tewali mulala. Neerayidde mwene, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu butuukirivu so tekirikomawo, nga nze buli vviivi lirinfukaamirira, buli lulimi lulirayira nze. Walibaawo aliŋŋamba nti, “mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi; eri oyo abantu gye balijja, n'abo bonna abaamusunguwalira balikwatibwa ensonyi. Mu Mukama ezzadde lyonna erya Isiraeri mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza.” Beeri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi byabwe biri ku nsolo ez'omu nsiko, ne ku nte; ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, bizito ku nsolo ezikooye. Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa. Mumpulire, ggwe ennyumba ya Yakobo, n'ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri, be nnaweekanga okuva lwe mwazaalibwa, be nnasitulanga mu lubuto; n'okutuusa ku bukadde nze nzuuyo; n'okutuusa ku nvi nnaabasitulanga; nze nnabakola era nze nnaabaweekanga; nnaabasitulanga era nnaabalokolanga. Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingeraageranyaako tufaanane? Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda; bavuunamira, ne basinza. Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye n'ayimirira; mu kifo kye tayinza kuvaawo; weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ye. Mujjukire kino mmwe, mulowooze, mukijjukire nate, mmwe aboonoonyi. Mujjukire ebigambo ebyasooka eby'edda; kubanga nze Katonda so tewali mulala; nze Katonda so tewali anfaanana; alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna; ayita ennyonyi ey'amaddu okuva ebuvanjuba, omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala; weewaawo, n'ayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza; n'ateesa, n'okukola ndikikola. Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n'obutuukirivu; nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala, n'obulokozi bwange tebulirwawo; era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange. Serengeta otuule mu nfuufu, ggwe omuwala wa Babbulooni, embeerera; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya! kubanga tebaliddayo kukuyita nyanyali era mwekanasi. Ddira emmengo ose obutta, ggyako akatimba ku maaso go, situla ku ngoye z'oku magulu, oyite mu migga. Obwereere bwo bulibikkuka, weewaawo, ensonyi zo zirirabika; ndiwalana eggwanga, ssirirekawo muntu n'omu Omununuzi waffe, Mukama ow'eggye lye linnya lye, Omutukuvu wa Isiraeri. Tuula ng'osirise, yingira mu kizikiza, ggwe omuwala w'Abakaludaaya; kubanga tebakyakuyitanga Mukyala wa mu bwakabaka. Nnasunguwalira abantu bange, nnavumisa obusika bwange, ne mbawaayo mu mukono gwo; tewabasaasira n'akamu; N'abakadde wabateekako ekikoligo kyo ekizito ennyo. N'oyogera nti, “N'abanga mukyala ennaku zonna,” ebyo n'otobissa ku mwoyo wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo. Kale nno kaakano wulira kino, ggwe awoomerwa amasanyu, ggwe ateredde mu mirembe gyo, ayogera mu mutima gwo, nti, “Nze ndiwo so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, oba okufiirwa abaana;” naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana n'obwannamwandu, birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi. Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti, “Siriiko andaba;” amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza; n'oyogera mu mutima gwo nti, “ Nze ndiwo, tewali mulala wabula nze.” Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya ngeri yakubweggyako, akabi kalikugwako; toliyinza kukaggyawo, okuzikirira kuli kugwako mangu ago nga totegedde. Yimirira nno n'obusawo bwo n'obulogo bwo obwayinga obungi, obwakutengezzanga okuva mu buto bwo; oba nga mpozzi oliyinza okugasa, oba nga mpozzi oliyinza okusobola. Abateesa naawe abayinga obungi bakukooyezza; abalaguza eggulu, abalengera emmunyeenye, abalanga eby'emyezi bayimirire nno bakulokole mu ebyo ebirikujjako. Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro; teguliba lyanda lya kwota, newakubadde ekyoto eky'okutuulako. Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga; abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola. Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abaatuumibwa erinnya lya Isiraeri era abaava munda ya Yuda; abalayira erinnya lya Mukama, era abaatula Katonda wa Isiraeri, naye si mu mazima wadde mu butuukirivu. Kubanga beeyita ba mu kibuga kitukuvu, era beesigama ku Katonda wa Isiraeri; Mukama ow'eggye lye linnya lye. N'abuulira ebigambo ebyasooka okuva edda; weewaawo, byava mu kamwa kange ne mbiranga; nabikola mangu ne bituukirira. Kubanga nnamanya ng'oli mukakanyavu, n'ensingo yo kinywa kya kyuma, n'ekyenyi kyo kikomo; kyennava nkikubuulira okuva edda; nga tekinnatuukirira nnakiranga gy'oli; olemenga okwogera nti, “Ekifaananyi kyange kye kibikoze, n'ekifaananyi kyange ekyole n'ekifaananyi kyange ekisaanuuse bye bibiragidde.” Wakiwulira; laba bino byonna; nammwe temulikibuulira? Nkulaze ebigambo ebiggya okuva mu biro bino, ebigambo ebyakwekebwa, by'otomanyanga. Bitondeddwa kaakano so si kuva dda; era okusooka olwa leero tobiwuliranga; olemenga okwogera nti Laba, nali mbimanyi. Towuliranga wadde okutegeera, obw'edda bwonna okutu kwo tekuggukanga; kubanga nnamanya nga walyazaamaanya nnyo, era wayitibwa mujeemu okuva lwe wazaalibwa. Olw'erinnya lyange ndirwisaawo obusungu bwange, olw'ettendo lyange ndizibiikiriza, nneme okukuzikiriza. Laba, nkulongoosezza naye si nga ffeeza; nkugezesezza mu kirombe ky'okubonaabona. Ku lwange nze, ku lwange nze kyendiva nkikola; kubanga erinnya lyange bandirivumye batya? n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala. Mpuliriza, ggwe Yakobo, ne Isiraeri gwe nnayita, nze nzuuyo; nze w'olubereberye, era nze w'enkomerero. Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw'ensi, n'omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu; bwe mbiyita byombi bijja. Mwekuŋŋaanye, mmwe mwenna, muwulire; ani ku bo eyali abuulidde ebyo? Mukama yamwagala; alikola Babbulooni by'ayagala, n'omukono gwe guliba ku Bakaludaaya. Nze, nze mwene, njogedde; mmuyise, mmuleese, era aliraba omukisa mu lugendo lwe. Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye ssoogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi; era kaakano Mukama Katonda antumye n'Omwoyo gwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu. Singa wawulira amateeka gange! kale emirembe gyo gyandibadde ng'omugga, n'obutuukirivu bwo ng'amayengo g'ennyanja: era n'ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, n'ab'enda yo ng'empeke zaagwo; erinnya lyabwe teryandisanguliddwa so teryandizikiridde mu maaso gange. Mufulume mu Babbulooni, mudduke Abakaludaaya; mubuulire mwogere kino mukirange, okutuusa ku nkomerero y'ensi n'eddoboozi ery'okuyimba; mwogere nti, “Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.” Tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu; yabakulukusiza amazzi agaava mu lwazi; era yayasa n'olwazi, amazzi ne gavaamu. Tewali mirembe eri ababi, bw'ayogera Mukama. Mumpulirize, mmwe ebizinga; era mutege amatu, mmwe amawanga agali ewala. Mukama yampita okuva mu lubuto; okuva munda ya mmange yayatula erinnya lyange. Yakola akamwa kange ng'ekitala eky'obwogi, mu kisiikirize ky'omukono gwe mw'ankwese; era anfudde akasaale akazigule, mu mufuko gwe mw'ankuumidde ddala; era yaŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange;” Isiraeri gwe ndiweerwamu ekitiibwa. Naye ne njogera nti, “Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa, naye mazima omusango gwange guli ne Mukama, n'empeera yange eri ne Katonda wange.” Era kaakano ayogera Mukama eyammumba okuva mu lubuto okuba omuweereza we, okumukomezaawo nate Yakobo n'okukuŋŋaanya Isiraeri gy'ali, kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama, era Katonda wange afuuse amaanyi gange: weewaawo, ayogera nti, “Ekigambo kyayinga obwangu ggwe okuba omuweereza wange okugolokosa ebika bya Yakobo n'okulokola abawonye ku Isiraeri; era ndikuwaayo okuba omusana eri ab'amawanga, obeerenga obulokozi bwange okutuusa ku nkomerero y'ensi.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wa Isiraeri, era Omutukuvu we, ng'agamba oyo abantu gwe banyooma, oyo eggwanga gwe likyawa, omuweereza w'abafuga, nti Bakabaka baliraba ne bagolokoka; abalangira baligolokoka ne basinza; ku lwa Mukama omwesigwa, Omutukuvu wa Isiraeri eyakulonda. Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “ Nkwanukulidde mu biro eby'okukkirizibwamu, era nkuyambye ku lunaku olw'okulokokeramu; era ndikuwonya ne nkuwaayo okuba endagaano eri abantu, okugolokosa ensi, okubasisa obusika obwazika: ng'obuulira abo abasibiddwa nti, Mufulume; abo abali mu kizikiza nti, Mwerage. Banaaliiranga mu makubo, ne ku nsozi enjereere kwe kunaabanga amalundiro gaabwe. Tebaalumwenga njala newakubadde ennyonta; so n'ebbugumu teribakwatenga newakubadde omusana okubookya. kubanga oyo abasaasira anaabakulemberanga era awali enzizi z'amazzi gy'anaabatwalanga. Era ndifuula ensozi zange zonna okuba ekkubo, n'enguudo zange zirigulumizibwa. Laba, bano baliva wala; era, laba, bano baliva obukiikakkono n'ebugwanjuba; era bano mu nsi y'e Sinimu.” Yimba, ggwe eggulu; era sanyuka, ggwe ensi; era mubaguke okuyimba, mmwe ensozi: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, era alisaasira ababe ababonyaabonyezebwa. Naye Sayuuni n'ayogera nti, “ Mukama andese, era Mukama anneerabidde.” “Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, n'atasaasira mwana wa nda ye? abo bayinza okwerabira, naye nze ssiikwerabirenga ggwe. Laba, nkuyoze ku bibatu by'emikono gyange; ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo. Abakuzimba basukkuluma abo abaakuzikiriza n'abaakuzisa balikuvaamu. Yimusa amaaso go enjuyi zonna olabe; abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tolirema kubambala bonna ng'eky'obuyonjo, n'obeesiba ng'omugole. Kubanga ebifo byo ebyazika ebyalekebwawo n'ensi yo eyazikirizibwa, mazima kaakano olibayingirira obufunda abatuulamu, n'abo abaakulyanga baliba wala. Abaana abazaalibwa mu buwaŋŋanguse balyogerera mu matu go; nti, Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala; mpa ekifo eky'okutuulamu. N'olyoka oyogerera mu mutima gwo, nti Ani eyanzaalira bano, kubanga nnafiirwa abaana bange, era ndi omu, nnawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. ani eyazaala bano? Laba, n'asigala omu; bano baava ludda wa?” Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigololera amawanga omukono gwange, ne nsimbira abantu ebendera yange: awo balireeta batabani bo mu kifuba kyabwe, ne bawala bo balikongojjerwa ku bibegabega byabwe. Era bakabaka baliba bakitaawo abalera, ne bakaddulubaale baabwe baliba bannyoko abayonsa; balikuvuunamira n'amaaso gaabwe, ne bakomba enfuufu ey'omu bigere byo; kale olimanya nga ndi Mukama, n'abo abannindirira tebalikwatibwa nsonyi. Omunyago guliggibwa ku b'amaanyi, oba abawambibwa olw'ensonga baliteebwa? Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama nti N'abo ab'amaanyi be baawamba baliggibwawo, n'omunyago gw'ab'entiisa guliteebwa; kubanga ndiyomba n'oyo ayomba naawe, era ndirokola abaana bo. Era abo abakujooga ndibaliisa ennyama yaabwe bo; era balitamiira omusaayi gwabwe bo, nga n'omwenge omuwoomerevu; n'abalina omubiri bonna balimanya nga nze Mukama omulokozi wo, era omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo. Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Ebbaluwa ey'okugoba nnyammwe eri ludda wa gye nnamugobya? Oba aluwa ku abo abammanja gwe nnabaguza? Laba, olw'obutali butuukirivu bwammwe kyemwava mutundibwa, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe. Lwaki bwe nnajja tewaali muntu n'omu? Bwe nnayita lwaki tewaali muntu n'omu annyanukula? Omukono gwange guyimpawadde ne gutayinza n'akatono kununula? Oba sirina maanyi n'akatono gakuwonya? Laba olw'okunenya kwange nkaliza ennyanja, emigga ngifuula eddungu; ebyennyanja byamu ne biwunya, obutabaawo mazzi, ne bifa ennyonta. Nnyambaza eggulu obuddugavu, era ndibikkako ebibukutu.” Mukama Katonda ampadde olulimi lw'abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n'ebigambo oyo akooye; anzuukusa buli nkya, azuukusa okutu kwange okuwulira ng'abo abayigirizibwa. Mukama Katonda aggudde okutu kwange, ne ssiba mujeemu ne ssikyuka kudda mabega. Nnawaayo omugongo gwange eri abakuba, n'amatama gange eri abo abakuunyuula ekirevu; ssaakweka maaso gange eri abo abansekerera n'eri abo abanfujjira amalusu. Kubanga Mukama Katonda yannyamba; kyennava nnema okuswazibwa; kyenvudde nteeka amaaso gange ng'ejjinja ery'embaalebaale, era mmanyi nga sirikwatibwa nsonyi. Ali kumpi ampeesa obutuukirivu; ani aliyomba nange? tuyimirire ffembi. Omulabe wange ye ani? ansemberere. Laba, Mukama Katonda ye alinnyamba; ani oyo alinsalira omusango? laba, bonna balikaddiwa ng'ekyambalo; ennyenje eribaliira ddala. Ani ku mmwe atya Mukama, agondera eddoboozi ly'omuweereza we? atambulira mu kizikiza, nga talina musana, yeesige erinnya lya Mukama, era yeesigame ku Katonda we. Laba, mmwe mwenna abakuma omuliro, abeesiba emimuli enjuyi zonna; mutambulire mu nnimi z'omuliro gwammwe, ne mu mimuli gye mukoleezezza. Ekyo kye muliweebwa mu mukono gwange; muligalamira nga munakuwadde. Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama; mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n'ekirombe ky'amayinja mwe mwasimibwa. Mutunuulire Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala; kubanga bwe yali ali omu yekka ne mmuyita ne mmuwa omukisa ne mmwaza Kubanga Mukama alisanyusa Sayuuni; alisanyusa ebifo bye byonna ebyazika n'afuula olukoola lwe okuba nga Edeni n'eddungu lye okuba ng'olusuku lwa Mukama; essanyu n'okujaguza birirabikira omwo, okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba. Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange; kubanga etteeka lirifuluma gye ndi, obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga. Obutuukirivu bwange buli kumpi, obulokozi bwange bufulumye, n'emikono gyange girisalira amawanga emisango ebizinga birinnindirira, n'omukono gwange gwe biryesiga. Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi wansi; kubanga eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abo abagituulamu balifa bwe batyo; naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna, so n'obutuukirivu bwange tebujjulukukenga. Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kw'abantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe. Kubanga ennyenje eribaliira ddala nga bwerya ekyambalo, n'enkuyege eribalya nga bwerya ebyoya by'endiga; naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna, n'obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna. Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi, ggwe omukono gwa Mukama; zuukuka nga mu nnaku ez'edda, mu mirembe egy'ebiro eby'edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatema Lakabu, eyafumita ogusota? Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag'obuziba obuwanvu; eyafuula obuziba bw'ennyanja okuba ekkubo abaanunulibwa okusomokeramu? N'abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, ennaku n'okusinda biriddukira ddala. Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa; ggwe ani n'okutya n'otya omuntu alifa, n'omwana w'omuntu alifuuka ng'omuddo; ne weerabira Mukama omutonzi wo, eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi; n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya olw'obukaali bw'omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi? Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa kukka mu bunnya, so n'emmere ye teribula. Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma; Mukama ow'eggye lye linnya lye. Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky'omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy'ensi ne ŋŋamba Sayuuni nti, “muli bantu bange.” Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky'obusungu bwe; wanywa n'omaliramu ddala ekikompe eky'okutagatta. Ku baana bonna be yazaala tekuli wa kumukulembera; so tekuli amukwata ku mukono ku baana bonna be yalera. Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? Okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala; ani anaakusanyusa? Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng'engabi mu kitimba; babuutikiddwa obusungu bwa Mukama, n'okunenya kwa Katonda wo. Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa, atamidde naye si na mwenge, bw'atyo bw'ayogera Mukama wo Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be, nti Laba, nzigye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta, kye kikompe eky'obusungu bwange; tolikinywako nate; era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya; abaabagamba nti, “ Mugwe wansi tubatambulireko,” naawe n'oteekawo omugongo gwo okuba ng'ettaka era okuba ng'oluguudo eri abo abayitako. Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n'atali mulongoofu. Weekunkumuleko enfuufu; golokoka otuule wansi, ggwe Yerusaalemi, weesumulule enjegere ez'omu bulago bwo, ggwe omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Mwatundirwa bwereere; era mulinunulibwa awatali ffeeza. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo; Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere. Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? Abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma. Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange; kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno.” Nga birungi ku nsozi ebigere by'oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby'obulungi, alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.” Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba n'amaaso gaabwe, okudda kwa Mukama mu Sayuuni. Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika; kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi. Mukama afungizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe. Mugende, mugende, muve omwo, temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu, mmwe abasitula ebintu bya Mukama. Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka; kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri y'alibakuuma. Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo. Nga abangi bwe baakwewuunya, endabika ye ng'eyonoonese nnyo, nga tafaananika, era ng'eyonoonese evudde ku y'abantu, bw'atyo bw'aliwunikiriza amawanga amangi; bakabaka balibunira ku lulwe; ekyo ekitababulirwanga balikiraba; ne kye batawuliranga balikitegeera. Ani akkiriza ebigambo byaffe? Era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama? Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa. Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike; era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu. Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula ennaku yaffe; naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa. Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe; okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya. Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna. Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n'atayasamya kamwa ke; ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasamya kamwa ke. Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango; n'ab'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu? Yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange. Ne bamuziikira wamu n'ababi, era n'abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga teyazza musango, wadde akamwa ke okwogera eby'obulimba. Naye Mukama yasiima okumubetenta; nnamunakuwaza: bwalifuula obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe. Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala; olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe. Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'ab'ekitiibwa, era aligabana omunyago wamu n'ab'amaanyi; kubanga yafuuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n'abalirwa wamu n'abasobya; naye yeetikka ekibi ky'abangi, era yawolereza abasobya. Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga; baguka okuyimba oyogerere waggulu, atalumwanga kuzaala! kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama. Gaziya ekifo eky'eweema yo, era babambe amagigi g'ennyumba zo; tokwata mpola, wanvuya emigwa gyo, onyweze enkondo zo. Kubanga olyanjaala ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono; n'ezzadde lyo lirirya amawanga, era lirituuza abantu mu bibuga ebyalekebwayo. Totya: kubanga tolikwatibwa nsonyi, so toswala, kubanga ensonyi tezirikukwata: kubanga olyerabira ensonyi ez'omu buvubuka bwo, n'ekivume ky'obwannamwandu bwo tolikijjukira nate. Kubanga Omutonzi wo ye balo; Mukama ow'eggye lye linnya lye; era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo; ayitibwa Katonda w'ensi zonna. Kubanga Mukama akuyise ng'omukazi eyalekebwawo n'omwoyo gwe nga guliko obuyinike, ng'omukazi owo mu buvubuka bw'agobebwa, bw'ayogera Katonda wo. Nkuleseewo akaseera katono; naye ndikukuŋŋaanya n'okusaasira kungi. Obusungu obwanjaala bwe bwankwata, nnakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo. Kubanga ekyo kiri ng'amazzi ga Nuuwa gye ndi; kuba nga bwe nnalayira ng'amazzi ga Nuuwa tegakyayanjaala ku nsi bwe ntyo bwe ndayidde nga sirikusunguwalira so sirikunenya. Kubanga ensozi zirivaawo n'obusozi buliggibwawo; naye ekisa kyange tekirikuvaako so n'endagaano yange ey'emirembe teriggibwawo, bw'ayogera Mukama akusaasira. Ggwe abonyaabonyezebwa, asuukundibwa n'omuyaga so tosanyusibwa, laba, nditeeka amayinja go mu mabala amalungi, ne nsimba emisingi gyo ne safiro. N'ebitikkiro byo ndibikola n'amayinja amatwakaavu, n'enzigi zo ne kabunkulo, n'ensalo yo yonna n'amayinja agasanyusa. N'abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n'emirembe gy'abaana bo giriba mingi. Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa; onoobanga wala n'okujoogebwa, kubanga tolitya; onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera. Laba, mpozzi balikuŋŋaana naye si nze ndibakuŋŋaanya; buli alikukuŋŋaanirako aligwa ku lulwo. Laba, nnatonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aggyamu ekintu ekikola omulimu gwe; era nnatonda n'omuzikiriza okufaafaaganya. Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw'abaddu ba Mukama, n'obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw'ayogera Mukama. “Kale ajje, buli muntu alumiddwa ennyonta, ajje eri amazzi, n'oyo atalina zigula, ajje, agule alye! weewaawo, mujje, mugule omwenge n'amata ebitali bya kugula ebitaliiko muwendo gwa kusasula. Lwaki musaasanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya, lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? mumpulirize n'obwegendereza, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu. Mutege amatu gammwe, mujje gye ndi; muwulire, mubeere abalamu; nange naalagaana nammwe endagaano eteriggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw'enkalakkalira. Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga. Laba, oliyita eggwanga lye wali tomanyi, era eggwanga eryali terikumanyi liriddukira gy'oli, ku lwa Mukama Katonda wo ne ku lw'Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga akugulumizizza. Munoonye Mukama nga bw'akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw'akyali okumpi: omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye; era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo. Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n'amakubo gammwe si makubo gange, bw'ayogera Mukama. Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n'ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe. Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli eby'okulya; bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira. Kubanga mulifuluma n'essanyu, mulitwalibwa n'emirembe okuvaayo: ensozi n'obusozi ziribaguka okuyimba mu maaso gammwe, n'emiti gyonna egy'oku ttale girikuba mu ngalo. Mu kifo ky'omweramannyo mulimera olusambya, ne mu kifo ky'omutovu mulimera omumwanyi; ekyo kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Mukole eby'amazima era mukolenga eby'obutuukirivu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n'obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa. Alina omukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.” So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti, “Mukama talirema kunjawula n'abantu be,” so n'omulaawe tayogeranga nti, “Laba, ndi muti mukalu.” Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “ Eri abalaawe abakwata Ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange. Nti: Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba yange mu bisenge byamu, ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo. Era ne bannamawanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange; abo ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna. Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti, Oliba olyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.” Mmwe mwenna ensolo ez'omu nsiko, mujje okulya, mmwe mwenna ensolo ez'omu kibira. Abakuumi be bazibe b'amaaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; baloota, nga bagalamira, baagala okubongoota. Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna. Boogera nti, “Mujje, nnaakima omwenge, ne twekamirira ekitamiiza; n'olw'enkya luliba ng'olwa leero, olukulu olutenkanika.” Omutuukirivu azikirira, so tewali akissaako mwoyo; n'abantu ab'ekisa baggibwawo, nga tewali alowooza ng'omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja. Ayingira mu mirembe; bawummulira ku bitanda byabwe, buli muntu atambulira mu bugolokofu bwe. Naye musembere wano, mmwe batabani b'omukazi omulogo, ezzadde ly'omwenzi n'omukazi eyeetunda. Muzannyira ku ani? ani gwe mukongoola ne mumusoomoza? temuli baana ba kusobya, zzadde lya bulimba, mmwe abeereetera okwegomba mu mivule, wansi wa buli muti ogumera; abattira abaana mu biwonvu wansi w'enjatika z'enjazi? Mu mayinja amaweweevu ag'omu kiwonvu we wali omugabo gwo; ago, ago kye kitundu kyo; ago ge wafuukira ekiweebwayo eky'okunywa, ge wawa ekirabo. Ndiwooyawooyezebwa ebyo nga bibaddewo? Ku lusozi oluwanvu olugulumivu kwe wasimba ekitanda kyo; era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka. Era wasimba ekijjukizo kyo emabega w'enzigi n'emifuubeeto, kubanga weebikkulidde omulala atali nze, era olinnye ogaziyizza ekitanda kyo ne weeragaanira endagaano nabo; wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira. N'ogenda eri kabaka ng'olina amafuta ag'omugavu, n'oyongera kalifuwa wo, n'otuma wala ababaka bo, ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe. Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya; naye n'otoyogera nti, “ Tewali ssuubi;” walaba ekyakuzzaamu amaanyi; kyewava olema okuzirika. Era ani gwe watya n'otekemuka n'okulimba n'olimba n'otonjijukira nze, so tokissanga ku mwoyo? obw'edda ssaasirika busirisi, naawe n'otontya? Ndibuulira obutuukirivu bwo, n'ebikolwa byo nabyo tebirikugasa. Bw'okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole; naye empewo eribatwala, omukka gulibaggirawo ddala bonna; naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi, era ye alisikira olusozi olutukuvu. Era alyogera nti, “ Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo, muggye enkonge mu kkubo ly'abantu bange.” Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti, “ Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw'abakkakkamu, n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde. Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n'emmeeme ze nnakola. Olw'omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala ne mmukuba, nnakweka amaaso gange ne nsunguwala; ne yeeyongera okugenda mu maaso ng'abambaala mu kkubo ly'omutima gwe. Ndabye amakubo ge, era ndimuwonya; n'okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa ye n'abo abamukaabirako. Nze ntonda ebibala eby'emimwa: Emirembe, emirembe eri oyo ali ewala n'eri oyo ali okumpi, bw'ayogera Mukama; nange ndimuwonya. Naye ababi baliŋŋaanga ennyanja esiikuuka; kubanga teyinza kuteeka, n'amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n'ebisasiro. Tewali mirembe, bw'ayogera Katonda wange, eri ababi.” Yogerera waggulu, tosirika, yimusa eddoboozi lyo ng'ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n'ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe. Naye bannoonya bulijjo, era basanyuka okumanya amakubo gange; ng'eggwanga eryakolanga eby'obutuukirivu, ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe, bansaba ebiragiro eby'obutuukirivu, basanyuka okusemberera Katonda. Lwaki ffe okusiiba, bwe boogera, naawe n'otolaba? Lwaki ffe okubonyaabonya obulamu bwaffe, naawe n'otokissaako mwoyo? Laba, ku lunaku olw'okusiiba kwammwe kwe mulabira essanyu lyammwe mmwe, musigala munyigiriza abakozi bammwe. Laba, musiibira ennyombo n'okulwana, nga mukuba ebikonde. Temuyinza kusiiba leero bwe mutyo eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu. Okusiiba kwe nnalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lw'abonyezabonyezaako obulamu bwe? Kwe kukutamya omutwe ng'olulago, n'okwaliira ebibukutu n'evvu wansi we? Ekyo ky'onooyita okusiiba, era olunaku Mukama lw'asiima? Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda? okusumulula ebisiba eby'ekyejo, okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo, n'okuteera ddala abajoogebwa, era mumenye buli kikoligo? Si kugabira bayala emmere yo, n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo? bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza; n'oteekweka baganda bo abeetaaga obuyambi bwo? Kale omusana gwo ne gulyoka gusala ng'emmambya, n'okuwona kwo ne kwanguwa okujja, n'obutuukirivu bwo bulikukulembera; ekitiibwa kya Mukama kirikuvaako emabega. N'olyoka oyita Mukama n'ayitaba; olikaaba naye alyogera nti Nze nzuuno. Bw'onoggya wakati wo ekikoligo, okusonga ennwe, n'okwogera obubi; n'omuggirawo omuyala obulamu bwo, n'okkusa obulamu obubonyaabonyezebwa; kale omusana gwo ne gulyoka guviirayo mu kizikiza, n'ekifu kyo kiriba ng'ettuntu; era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu n'anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi era ng'oluzzi lw'amazzi olutaggwaamu mazzi. N'abo abalikuvaamu balizimba ebifo eby'edda ebyazika; olizza emisingi egy'emirembe emingi; era oliyitibwa nti Muzibi wa kituli, Muzza wa makubo ga kutuulamu. Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku Ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; Ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe: kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. Laba, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n'okuyinza ne gutayinza kulokola; so n'okutu kwe tekumuggadde n'okuyinza ne kutayinza kuwulira; naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bwawudde mmwe ne Katonda wammwe, n'ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso, n'atayagala kuwulira. Kubanga emikono gyammwe gyonoonese n'omusaayi, engalo zammwe n'obutali butuukirivu; emimwa gyammwe gyogedde eby'obulimba, olulimi lwammwe luvulungutana eby'ekyejo. Tewali awaaba eby'ensonga so tewali awoza eby'amazima; beesiga obutaliimu ne boogera eby'obulimba; baba mbuto za bubi ne bazaala obutali butuukirivu. Baalula amagi ag'essalambwa ne baluka engoye eza nnabbubi; alya ku magi gaabwe afa, n'ekyo ekibetentebwa ne kiwamatukamu embalasaasa. Engoye zaabwe tezirifuuka byambalo, so tebalyebikka mirimu gyabwe; emirimu gyabwe mirimu gya butali butuukirivu, n'ekikolwa eky'ekyejo kiri mu ngalo zaabwe. Ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, era banguya okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango; ebirowoozo byabwe birowoozo bya butali butuukirivu; okuzika n'okuzikirizibwa kuba mu makubo gaabwe. Ekkubo ery'emirembe tebalimanyi; so mu magenda gaabwe temuli musango; beekubidde amakubo amakyamu; buli atambulira omwo tamanyi mirembe. Amazima gatuli wala, so n'obutuukirivu tetubufunye, tusuubira omusana, naye ne tulaba kizikiza; tusuubira okumasamasa, naye ne tutambulira mu kifu. Tuwammanta ekisenge ng'abazibe b'amaaso, weewaawo, tuwammanta ng'abo abatalina maaso; twesitala mu ttuntu ng'ekiro; mu abo abalina amaanyi tuliŋŋanga abafu. Fenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo nga bukaamukuukulu; tusuubira omusango naye nga tewali; tusuubira obulokozi, naye butuli wala. Kubanga okusobya kwaffe kweyongedde mu maaso go, n'ebibi byaffe be bajulirwa gyetuli: kubanga okusobya kwaffe kuli naffe, n'obutali butuukirivu bwaffe nabwo tubumanyi, nga tusobya era nga twegaana Mukama, era nga tukyuka obutagoberera Katonda waffe, nga twogera eby'okujooga n'eby'okujeema, nga tugunja ebigambo eby'obulimba era nga tubyogera okuva mu mutima. N'omusango gukyusibwa okudda emabega, n'obutuukirivu buyimirira wala: kubanga amazima gagudde mu luguudo, so n'obugolokofu tebuyinza kuyingira. Weewaawo, amazima gabuze; n'oyo ava mu bubi yeefuula munyago; Mukama n'akiraba n'anyiiga obutabaawo bwenkanya. N'alaba nga tewali muntu, ne yeewuunya obutabaawo muwolereza; omukono gwe ye kyegwava gumuleetera obulokozi; n'obutuukirivu bwe bwe bwamuwanirira. N'ayambala obutuukirivu ng'eky'omu kifuba, n'enkuufiira ey'obulokozi ku mutwe gwe; n'ayambala engoye ez'okuwalana eggwanga okuba ebyambalo, n'ayambazibwa obunyiikivu ng'omunagiro. Ng'ebikolwa byabwe bwe biriba, bw'atyo bw'alisasula, abamukyawa alibasasula ekiruyi, abamukyawa alibasasula empeera; alisasula ebizinga empeera. Kale balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n'ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba: kubanga alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa n'omukka gwa Mukama. Era omununuzi alijja e Sayuuni n'eri abo abakyuka okuva mu kusobya mu Yakobo, bw'ayogera Mukama. “Nange eno y'endagaano yange gye ndagaana nabo, bw'ayogera Mukama; omwoyo gwange oguli ku ggwe n'ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko tebiivenga mu kamwa ko newakubadde mu kamwa k'ezzadde lyo newakubadde mu kamwa k'ezzadde ly'ezzadde lyo, bw'ayogera Mukama, okusooka kaakano n'emirembe n'emirembe.” Golokoka, oyake, kubanga omusana gwo guzze, n'ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo. Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga; naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe. N'amawanga galijja eri omusana gwo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng'ovaayo. Yimusa amaaso go omagemage olabe; bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy'oli, batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo balisitulibwa mu mikono. Awo n'olyoka olaba n'oyakirwa, n'omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy'oli, obugagga obw'amawanga bulikujjira. Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira eze Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba; balireeta ezaabu n'omugavu ne balanga amatendo ga Mukama. Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza, zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitiibwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange. Bano be baani ababuuka ng'ekire era ng'amayiba agadda mu bisu byago? Mazima ebizinga birinnindirira, n'ebyombo eby'e Talusiisi bye birisooka okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeeza yaabwe n'ezaabu yaabwe wamu nabo, olw'erinnya lya Mukama Katonda wo n'olw'Omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa. Era bannamawanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nnakukuba nga nkwatiddwa busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa. Era n'enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n'ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe. Kubanga eggwanga eryo n'obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala. Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, enfugo n'omuyovu ne namukago wamu; okuwoomya ekifo eky'awatukuvu wange, era ndifuula ekifo eky'ebigere byange okuba eky'ekitiibwa. N'abaana b'abo abaakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n'abo bonna abaakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakuyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky'Omutukuvu owa Isiraeri. Kubanga walekebwa n'okyayibwa ne wataba muntu ayita mu ggwe, ndikufuula okuba obulungi obungi obutaliggwaawo, essanyu ery'emirembe emingi. N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka; era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo. Mu kifo ky'ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky'ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky'amayinja ndireeta kyuma; era ndifuula abaami bo okuba emirembe n'abakusolooza okuba obutuukirivu. Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n'enzigi zo Kutendereza. Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa; naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo. Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri so n'omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo, n'ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo. Era n'abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw'engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa. Omuto alifuuka lukumi (1,000) n'omutono alifuuka ggwanga lya maanyi; nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse. Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n'abasibe okuggulirwawo ekkomera; Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde; okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni, okubawa engule mu kifo ky'evvu, amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga; balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gye yasimba, alyoke aweebwe ekitiibwa ye. Kale balizimba ebyazika eby'edda, baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo, era baliddaabiriza ebibuga ebyazika, amatongo ag'emirembe emingi. Era bannamawanga baliyimirira ne baliisa endiga zammwe, n'abagenyi be banaabalimiranga be banaabalongooserezanga emizabbibu. Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama, abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe; mulirya obugagga obw'amawanga, ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza. Mu kifo ky'ensonyi zammwe muliweebwa emirundi ebiri; ne mu kifo ky'okuswala balisanyukira omugabo gwabwe; kyebaliva babeera n'emigabo ebiri mu nsi yaabwe; baliba n'essanyu eritaliggwaawo. Kubanga nze Mukama njagala obwenkanya, nkyawa okunyaga wamu n'obutali butuukirivu; era ndibawa empeera yaabwe ng'amazima bwe gali, era ndiragaana nabo endagaano etaliggwaawo. N'ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga, n'enda yaabwe mu bantu, bonna abaabalabanga balibakkiriza ng'abo ly'ezzadde Mukama ly'awadde omukisa. Nnaasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange; kubanga annyambazizza ebyambalo eby'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu, ng'awasa omugole bwe yeeyonja n'engule, era ng'omugole bwe yeewoomya n'eby'obuyonjo bwe. Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo; bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza mu maaso g'amawanga gonna. Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula, okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng'okumasamasa, n'obulokozi bwe ng'ettabaaza eyaka. Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo; awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma. Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo. Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika; naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa; kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa. Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa; era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira. Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro; mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga, so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw'alinyweza n'afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi. Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti, “Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannamawanga tebalinywa mwenge gwo gw'otawaanidde, naye abaagikungula be baligirya ne batendereza Mukama; n'abo abaagunoga be baligunywera mu mpya ez'omu watukuvu wange.” Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery'abantu; muzimbe, muzimbe, oluguudo, mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera. Laba, Mukama alangiridde ku nkomerero y'ensi nti, “Mugambe omuwala wa Sayuuni nti, Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.” Era balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama; naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa, Kibuga ekitalekebwa. Ani ono ava mu Edomu, ng'alina ebyambalo ebinnyike mu ddagala ng'ava e Bozula? ono alina engoye ez'ekitiibwa, ng'atambuza amaanyi ge amangi? Nze ayogera obutuukirivu, ow'amaanyi okulokola. Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu, engoye zo ne zifaanana oyo asambira mu ssogolero? Nsambye essogolero omu nzekka; so ku mawanga tekwali n'omu eyali awamu nange, weewaawo, nabasamba mu busungu bwange ne mbalinnyirira mu kiruyi kyange; n'omusaayi ogw'obulamu bwabwe gumansukidde ku byambalo byange era engoye zange zonna zijjudde amabala. Kubanga olunaku olw'okuwalanirako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse. Ne mmagamaga ne wataba muyambi; ne nneewuunya obutabaawo wa kuwanirira; omukono gwange nze kyegwava gundeetera obulokozi; n'ekiruyi kyange kye kyampanirira. Ne nninnyirira amawanga wansi mu busungu bwange, ne mbatamiiza ku kiruyi kyange, ne nfuka ku ttaka omusaayi ogw'obulamu bwabwe. Naayogera ku bikolwa bya Mukama eby'ekisa ekingi n'amatendo ga Mukama, nga byonna bwe biri by'atuwadde Mukama; n'obulungi obungi obuli eri ennyumba ya Isiraeri, bw'abawadde ng'okusaasira kwe bwe kuli era ng'olufulube bwe luli olw'ebikolwa bye eby'ekisa ekingi. Kubanga yayogera nti Mazima be bantu bange, abaana abatalikuusakuusa, kale n'aba mulokozi waabwe. Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna, ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga; mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula; n'abasitulanga n'abeetikkanga ennaku zonna ez'edda. Naye ne bajeema ne banakuwaza Omwoyo gwe omutukuvu; kyeyava akyuka okuba omulabe waabwe, n'alwana nabo ye yennyini. Awo n'alyoka ajjukira ennaku ez'edda, Musa n'abantu be, ng'ayogera nti Ali ludda wa oyo eyabalinnyisa ng'abaggya mu nnyanja wamu n'abasumba b'endiga ze? Ali ludda wa oyo eyateeka Omwoyo gwe omutukuvu wakati mu bo? eyatambuzanga omukono gwe ogw'ekitiibwa awali omukono ogwa ddyo ogwa Musa? eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe okwekolera erinnya eritaliggwaawo? Eyabayisa mu buziba, ng'embalaasi mu ddungu, obuteesittala? Ng'ente bwe ziba ezikka mu kiwonvu, Omwoyo gwa Mukama gwabawummuzanga bwe gutyo; bwe watwala bw'otyo abantu bo okwekolera erinnya ery'ekitiibwa. Tunula ng'oyima mu ggulu, olabe ng'oyima mu nnyumba ey'obutukuvu bwo n'ekitiibwa kyo; buli ludda wa obunyiikivu bwo n'ebikolwa byo eby'amaanyi? Okwagala kw'emmeeme yo n'okusaasira kwo kuziyizibwa gye ndi. Kubanga ggwe Kitaffe, newakubadde nga Ibulayimu tatumanyi so ne Isiraeri nga tatukkiriza; ggwe, ayi Mukama, ggwe Kitaffe; Omununuzi waffe okuva emirembe n'emirembe lye linnya lyo. Ayi Mukama, lwaki ggwe okutukyamya mu makubo go n'okakanyaza omutima gwaffe obutakutya? Komawo ku lw'abaddu bo, ebika eby'obusika bwo. Abantu bo abatukuvu baabulina kaseera buseera; abalabe baffe balinnyiridde awatukuvu wo. Tufuuse ng'abo b'otofuganga; ng'abo abatatuumibwanga linnya lyo. Singa oyuzizza eggulu n'okka wansi, ensozi ne zikankana mu maaso go, ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, ng'omuliro bwe gweseza amazzi; okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire mu maaso go! Bwe wakola eby'entiisa bye tutasuubiranga, wakka, ensozi ne zikankana mu maaso go. Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubategeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omulimu oyo amulindirira. Osisinkana n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu makubo go; laba, wasunguwala naffe ne twonoona; edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka? Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋaanga ekyambalo ekikongedde; era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ng'empewo. So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe. Naye kaakano, ayi Mukama, ggwe Kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo. Tosunguwala nnyo nnyini, ayi Mukama, so tojjukira butali butuukirivu ennaku zonna, laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo. Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu, Sayuuni kifuuse ddungu, Yerusaalemi matongo. Ennyumba yaffe entukuvu ennungi, bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, eyokeddwa omuliro; n'ebintu byaffe byonna eby'okwesiima bifaafaaganye. Olizibiikiriza ebyo nga bimaze okubaawo, ayi Mukama? Olisirika n'otubonyaabonya nnyo nnyini? Nze nnali mwetegefu okwebuuzibwako abo abatambuuzangako; Nze nnali mwetegefu okuzuulibwa abo abatannoonyanga. Nnagamba nti, “Ndi wano, ndi wano,” eri eggwanga eryali litakoowoolangako linnya lyange. Nnagololera emikono gyange okuzibya obudde eri abantu abajeemu abatambulira mu kkubo eritali ddungi, abagoberera ebirowoozo byabwe bo; abantu abansunguwaza mu maaso gange olutata, nga basalira ssaddaaka mu nsuku, era nga bootereza obubaane ku matoffaali; abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby'ekyama; abalya ennyama y'embizzi n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe; aboogera nti, “Yimirira wekka, tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu.” Abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde. Laba, kiwandiikiddwa mu maaso gange; sirisirika, naye ndisasula, weewaawo, ndisasula mu kifuba kyabwe obutali butuukirivu bwammwe mmwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjammwe wamu, bw'ayogera Mukama, abaayoterezanga obubaane ku nsozi ne banzivoolera ku busozi, kyendiva nsooka okugera omulimu gwabwe mu kifuba kyabwe. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaawo ayogera nti,‘Togwonoona, kubanga gukyalimu akalungi,’ bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange nneme okubazikiriza bonna. Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange; n'abalonde bange baligisikira n'abaddu bange balituula omwo. Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n'ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw'abantu bange abannoonyezza. Naye mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera Mukisa emmeeza, abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule; nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.” Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda nti, “Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala; laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta; laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala; laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa. Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n'atuuma abaddu be erinnya eddala. eyeesabira omukisa mu nsi kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow'amazima; n'oyo alayira mu nsi anaalayiranga Katonda ow'amazima; kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa, era kubanga bukwekeddwa amaaso gange. Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya; so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda; kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n'abantu baamu okuba essanyu. Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange; so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira. Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze; kubanga omwana alifa nga awezeza emyaka kikumi (100), n'alina ebibi nga awezeza emyaka kikumi (100) alikolimirwa. Era balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya; kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe. Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n'enda yaabwe wamu nabo. Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira. Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n'empologoma eneeryanga omuddo ng'ente; n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange; nnyumba ki gye mulinzimbira? Era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange? Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama. Naye omuntu alina omwoyo oguboneredde era ow'eggonjebwa era omwetoowaze era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira. Asala ente aliŋŋaanga atta omuntu; awaayo omwana gw'endiga aliŋŋaanga amenyako embwa ensingo; aleeta ekiweebwayo eky'empeke aliŋŋaanga awaddeyo omusaayi gw'embizzi; era n'oyo anyookeza obubane bw'ekijjukizo, ali ng'oyo asabira ekifaananyi omukisa; balonze amakubo gaabwe bo, n'emmeeme yaabwe esanyukira emizizo gyabwe; Nange ndisalawo mbatuseeko ekibambulira, ne mbaleetako ebyo bye batya; kubanga bwe nnayita, teri n'omu eyayitaba; bwe nnayogera tebaawulira; naye ne bakola ekyali ekibi mu maaso gange, ne balonda ekyo kye ssaasanyukira. Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakankanira ekigambo kye; Baganda bammwe abaabakyawa, abaabagoba okubalanga erinnya lyange, boogedde nti, Leka Mukama aweebwe ekitiibwa tulyoke tulabe essanyu lyammwe; naye balikwatibwa ensonyi. Eddoboozi ery'okuyoogaana eriva mu kibuga, eddoboozi eriva mu Yeekaalu, eddoboozi lya Mukama asasula abalabe be empeera. Yali nga tannalumwa n'azaala; obubalagaze bwe bwali nga tebunnatuuka n'azaala omwana wa bulenzi. Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo? Ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo? Ensi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? Kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n'azaala abaana be. Ndituusa okuzaalisa abantu bange ne ssizaaza? Bw'ayogera Mukama; nze azaaza ndiggala olubuto? Bw'ayogera Katonda wo. Musanyukire wamu ne Yerusaalemi, mujaguze ku lulwe, mmwe mwenna abamwagala; musanyukire wamu naye olw'essanyu, mmwe mwenna abamukaabirira, mulyoke muyonke mukkute amabeere ge agasanyusa; mulyoke mukkutire ddala, ekitiibwa kye ekisukkirivu. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndibunya emirembe gy'ali ng'omugga, n'obugagga bw'amawanga ng'omugga ogwanjaala, nammwe muliyonkako; muliweekerwa ku mbiriizi, era mulibuusibwabuusibwa ku maviivi. Ng'omuntu nnyina gw'asanyusa, bwe ntyo bwe ndisanyusa mmwe; ne musanyusibwa mu Yerusaalemi. Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulijaguza n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu; n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be, era alisunguwalira abalabe be. Kubanga, laba, Mukama alijja n'omuliro, n'amagaali ge galiba ng'empewo ey'akazimu; okusasula obusungu bwe n'ekiruyi, n'okunenya kwe n'ennimi ez'omuliro. Kubanga Mukama aliwoza na muliro era na kitala kye eri bonna abalina omubiri, era Mukama baalitta baliba bangi. Abo abeetukuza ne beerongoosa okugenda mu nsuku, emabega w'omu ali wakati, nga balya ennyama y'embizzi n'eky'omuzizo ekyo n'omusonso; baliggweerawo wamu, bw'ayogera Mukama. Kubanga nze mmanyi emirimu gyabwe n'ebirowoozo byabwe; ebiro bijja lwe ndikuŋŋaanya amawanga gonna n'ennimi; kale balijja ne balaba ekitiibwa kyange. Era nditeeka akabonero mu bo, n'abo abaliwona ku bo ndibatuma mu mawanga, eri Talusiisi, Puuli ne Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga ebiri ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, so tebalabanga kitiibwa kyange; kale balibuulira amawanga ekitiibwa kyange. Awo balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna okuba ekiweebwayo eri Mukama, ku mbalaasi ne mu magaali ne ku nnyinyo ne ku nnyumbu ne ku nsolo ez'embiro, awali olusozi lwange olutukuvu Yerusaalemi, bw'ayogera Mukama, ng'abaana ba Isiraeri bwe baleeta ekyo kye bawaayo mu kintu ekirongoofu mu nnyumba ya Mukama. Era nditwala ne ku bo okuba ba Kabona n'Abaleevi, bw'ayogera Mukama. Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, bwe bityo bwe lirisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe. Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n'okuva ku Ssabbiiti okutuusa ku Ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw'ayogera Mukama.” “Kale balifuluma ne batunuulira emirambo gy'abasajja abansobezzaako: kubanga envunyu yaabwe terifa, so n'omuliro gwabwe tegulizikizibwa: era baliba kyenyinyalwa eri bonna abalina omubiri.” Ebigambo bya Yeremiya mutabani wa Kirukiya omu ku bakabona abaali mu kibuga Anasosi mu nsi ya Benyamini, eyajjirwa ekigambo kya Mukama mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ogw'okufuga kwe. Era kyajja ne mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, n'okutuusa ku nkomerero y'omwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, n'okutuusiza ddala ab'e Yerusaalemi lwe baatwalibwa nga basibe mu mwezi ogw'okutaano. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kigamba nti, “Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nnakutukuza; era nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga.” Awo nze ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! Laba, siyinza kwogera, kubanga ndi mwana muto.” Naye Mukama n'aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana muto;’ kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy'onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky'onooyogeranga. Tobatyanga, kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw'ayogera Mukama.” Awo Mukama n'agolola omukono gwe n'akwata ku kamwa kange; Mukama n'aŋŋamba nti, “Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko. Laba, leero nkutaddewo okuba omukulu w'amawanga era ow'amatwale ga bakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza n'okusuula; okuzimba n'okusimba.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti, “Ndaba omuggo ogw'omulozi.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza.” Awo Mukama naayogera nange omulundi ogwokubiri n'aŋŋamba nti, “Olaba ki?” Ne nziramu nti, “Ndaba entamu eyeesera; ng'etunudde e bukiikakkono.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Okusinziira obukiikakkono obubi bulifubutuka, okutuuka ku bantu bonna abali mu nsi. Kubanga, laba, ndiyita ebika byonna eby'amatwale ga bakabaka ab'omu bukiikakkono, bw'ayogera Mukama; era balijja ne basimba buli muntu entebe ye awayingirirwa mu miryango gya Yerusaalemi n'okwolekera bbugwe waayo yenna enjuyi zonna n'okwolekera ebibuga byonna ebya Yuda. Era ndyatula emisango gyange gyebali, olw'obubi bwabwe bwonna; kubanga bandese ne booteza obubaane eri bakatonda abalala, ne basinza ebyo bye baakola n'engalo zaabwe bo. Kale nno weesibe ekimyu oyimuke obagambe byonna bye nkulagira; tokeŋŋentererwanga gyebali, nange nneme okukukeŋŋenterererwa mu maaso gaabwe. Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu bonna ab'omu nsi. Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula, kubanga nze ndi wamu naawe, okukuwonya,” bw'ayogera Mukama. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Genda oyogerere waggulu nga bonna mu Yerusaalemi baawulira nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Nkujjuukirira ku kwewaayo okw'obuvubuka bwo, okwagala okw'okwogerezebwa kwo; bwe wangoberera mu ddungu mu nsi etaalimu bisigiddwa. Isiraeri, wali wange nzekka. Wali mutukuvu, ebibala ebibereberye eby'ebikungulwa byange; nga bonna abakulumya baba bazzizza omusango; era nga obubi bubatuukako, bw'ayogera Mukama.” Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe ennyumba ya Yakobo, n'ebika byonna eby'ennyumba ya Isiraeri. Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Butali butuukirivu ki bajjajjammwe bwe baalaba mu nze n'okugenda ne bagenda wala okunvaako, ne batambula okugoberera ebitaliimu ne bafuuka abataliimu nsa? So tebeebuza nako nti, ‘Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gyatayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera?’ Ne mbaleeta mu nsi ey'ekyengera, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu; naye bwe mwayingira ne mwonoona ensi yange, ne mufuula obusika bwange okuba omuzizo. Bakabona tebeebuuza nti, Mukama ali ludda wa? N'abo abakuumi b'amateeka tebammanya; era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne boogera ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitagasa.” “Kyennaava neeyongera okuwoza nammwe,” bw'ayogera Mukama, “era ndiwoza n'abaana b'abaana bammwe. Kale muwunguke mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; mutume e Kedali, mwetegereze nnyo; mulabe oba nga waali wabaddewo ekigambo ekyenkana awo. Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baalyo, newakubadde nga si bakatonda ddala? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitagasa. Ggwe eggulu samaalirira olw'ekyo, otye ekitatiika, owuubaale nnyo,” bw'ayogera Mukama. “Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri; bandese nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ebitayinza kubaamu mazzi.” “Isiraeri muddu? Muddu eyazaalibwa mu nnyumba? Kale kiki ekimufudde omuyiggo? Empologoma ento zimuwulugumiddeko ne zivuuma, ne zizisa ensi ye, ebibuga bye matongo, tewali abituulamu. Era abaana ba Noofu ne Tapanesi baasiza engule ku mutwe gwo. Teweereeseeko ekyo kubanga olese Mukama Katonda wo, eyakuluŋŋamiza mu kkubo? Kale nno ogasibwa ki mu kugenda e Misiri okunywa amazzi ga Kiyira? Oba ogasibwa ki mu kugenda e Bwasuli, okunywa amazzi ag'Omugga Fulaati? Obubi bwo ggwe buli kubonereza, era n'okuseeseetuka kwo kulikunenya. Manya era olabe nti kigambo kibi era kya bubalagaze, ggwe okuleka Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe,” bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye. “Kubanga edda ennyo wamenya ekikoligo kyo, n'okutula ebisiba byo, n'oyogera nti, ‘Sijja kuweereza.’ Kubanga wakutama ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi nga weefuula omwenzi. Songa nali nkusimbye ng'omuzabbibu omulungi, ensigo ey'amazima ameereere. Kale ofuuse otya gye ndi omuti ogwayonooneka ogw'omuzabbibu ogw'omu nsiko? Kubanga newakubadde ng'onaaba n'oluvu n'okozesa ne sabbuuni mungi, naye obutali butuukirivu bwo bulambiddwa mu maaso gange,” bw'ayogera Mukama Katonda. “Oyinza otya okwogera nti, ‘Ssoonoonese, ssiigobereranga Babaali?’ Laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro eyitaayita mu makubo gaayo; entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? Zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo. Tokooya bigere byo, era toleka mumiro gwo kulakasira ennyonta; naye n'oyogera nti, ‘Tewali ssuubi, kubanga njagadde bannamawanga, era be ndigoberera.’” “Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi, nga bamukutte, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'etyo; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe; abagamba ekikonge nti, ‘Ggwe kitange,’ n'ejjinja nti, ‘Ggwe onzaala.’ Kubanga bankubye amabega so si maaso gaabwe, naye mu biro mwe balirabira ennaku balyogera nti, ‘Golokoka otulokole.’ Naye bakatonda bo be weekoledde bali ludda wa? Bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw'olabira ennaku, kubanga ebibuga byo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ggwe Yuda.” “Kiki ekibaagaza okuwoza nange? Mwenna munjeemedde,” bw'ayogera Mukama. “Abaana bammwe newakubadde n'ababonereza, naye tebaganyizza kubuulirirwa; ekitala kyammwe mmwe kimazeewo bannabbi bammwe ng'empologoma ezikiriza. Mmwe ab'omu mirembe gino, mwetegereze ekigambo kya Mukama. N'abanga ddungu eri Isiraeri? Oba nsi ya kizikiza ekikutte? Abantu bange ekiboogeza ki nti, ‘Tuli ba ddembe; tetukyajja gy'oli nate?’ Omuwala ayinza okwerabira eby'obuyonjo bye, oba omugole ebyambalo bye? Naye abantu bange banneerabidde, ennaku nnyingi ezitabalika. Nga bwolongoosa ekkubo lyo okunoonya okwagalibwa! bw'otyo kyovudde oyigiriza n'abakazi ababi amakubo go. Era ku birenge byo kusangiddwako omusaayi gw'abaavu abataliiko musango; era b'otokwata nga balina kye bamenya. Kyokka ku bino byonna, era naye oyogera nti, ‘Siriiko musango; mazima obusungu bwa Mukama bukyuse okunvaako.’ Laba, ndiwoza naawe kubanga oyogera nti, ‘Ssoonoonanga.’ Otambuliratambulira ki ennyo bw'otyo okuwanyisa ekkubo lyo? Oliswazibwa Misiri, nga bwe waswazibwa Bwasuli. Era ne gy'oli olivaayo nga weetisse emikono, kubanga Mukama agaanyi ebyo bye weesiga, so toliraba mukisa mu byo.” “Singa omusajja agoba mukazi we, omukazi naye n'amuvaako n'aba ow'omusajja omulala, omusajja oyo alimuddira nate? Ensi eyo eba teyonoonese nnyo? Naye ggwe weefuula omwenzi eri baganzi bo abangi; era naye kati onoonzirira nate?” Bwayogera Mukama Yimusa amaaso go eri ensozi enjereere olabe; waliwo ekifo we batasulirangako naawe? Ku mabbali g'ekkubo, waatuulanga ng'olindirira baganzi bo, ng'Omuwalabu bw'ateega abantu mu ddungu; era wayonoona ensi n'obwenzi bwo n'obubi bwo. Empandaggirize kyezivudde ziziyizibwa, so tewabaddeewo ttoggo; era naye n'oba n'ekyenyi eky'omwenzi, wagaana okukwatibwa ensonyi. “Obadde tewakankoowoola nti, ‘Kitange, ggwe oli mukwano gwange owo mu buto bwange? Onooguguba n'obusungu bwo emirembe gyonna?’ Oliremera mu bwo okutuusa enkomerero? Laba, wayogera n'okola ebigambo ebibi, n'okwata ekkubo lyo ggwe.” Mukama n'aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti, “Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky'akoze? Alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi. Ne ndowooza nti bw'alimala okukola ebyo byonna, ‘Alinzirira;’ naye n'atadda; ne mwannyina ow'enkwe Yuda n'akiraba. Yuda yalaba nga olw'obwenzi bwa Isiraeri eyaseeseetuka, nnamugoba ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba, era naye mwannyina Yuda ow'enkwe n'atatya; naye era n'agenda ne yeefuula omwenzi. Awo olwatuuka kubanga mwangu okwenda, yayonoona ensi, n'ayenda ku mayinja ne ku bikonge. Era naye ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo, mwannyina ow'enkwe Yuda tanziridde n'omutima gwe gwonna, naye n'asigala ng'akuusakuusa,” bw'ayogera Mukama. Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Isiraeri eyaseeseetuka yeeraze okuba omutuukirivu okukira Yuda ow'enkwe.” Genda olangire ebigambo bino ng'otunuulira obukiikakkono, oyogere nti, “Komawo, ggwe Isiraeri eyaseeseetuka,” bw'ayogera Mukama. “Siibatunuulire n'obusungu, kubanga nnina okusaasira,” bw'ayogera Mukama, “siriguguba na busungu emirembe gyonna. Kyokka kkiriza obutali butuukirivu bwo, nga wasobya Mukama Katonda wo, n'osaasaanyiza okwagala kwo eri abagenyi, wansi wa buli muti omubisi, so temwagondera ddoboozi lyange,” bw'ayogera Mukama. “Mukomewo, mmwe abaana abadda emabega,” bw'ayogera Mukama, “kubanga nze bbammwe, era ndibatwala nga nzigya omu mu kibuga n'ababiri mu kika, ne mbaleeta e Sayuuni; era ndibawa abasumba ng'omutima gwange bwe guli abalibaliisa n'okumanya n'okutegeera.” Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti, “Essanduuko ey'endagaano ya Mukama,” so teriyingira mu mwoyo gwabwe; nga tebakyagijjukira wadde okugyetaaga; era nate tewaliba ndala erikolebwa. Mu biro ebyo baliyita Yerusaalemi entebe ya Mukama; n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa eyo, eri erinnya lya Mukama e Yerusaalemi, so tebalitambula nate ng'obukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi bwe buli. Mu biro ebyo ennyumba ya Yuda eritambulira wamu n'ennyumba ya Isiraeri, era baliviira wamu mu nsi ey'obukiikakkono ne bayingira mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba obusika. “Nnalowooza engeri gy'enkuteeka mu batabani bange, ne nkuwa ensi ey'essanyu, obusika obulungi mu mawanga gonna. Era nnalowooza nti mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera. Mazima omukazi nga bw'ava ku bba ng'asala olukwe, bwe mutyo nammwe bwe munsalidde enkwe, mmwe ennyumba ya Isiraeri.” Eddoboozi liwuliddwa ku nsozi enjereere, okukaaba n'okwegayirira kw'abaana ba Isiraeri; kubanga banyodde ekkubo lyabwe, beerabidde Mukama Katonda waabwe. “Mukomewo, mmwe abaana abaseeseetuse, nange n'awonya okuseeseetuka kwammwe.” “Laba, tuzze gy'oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe Mazima okubeerwa okusuubirwa okuva ku nsozi kwa bwereere, n'oluyoogaano oluli ku nsozi teruliimu; mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isiraeri. Naye okuviira ddala edda mu buto bwaffe, ekikwasa ensonyi kye kimazeewo emirimu gya bajjajjaffe, embuzi zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe. Tugalamire nga ensonyi zitukutte, okuswala kwaffe kutubikkeko; kubanga twonoonye Mukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe ne leero, so tetugonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.” “Bw'onokkiriza okukomawo, ggwe Isiraeri, bw'ayogera Mukama, eri nze gy'olidda. Bw'onoggyawo emizizo gyo mu maaso gange, kale tolijjulukuka; awo olirayiranga nti, Mukama nga bw'ali omulamu mu mazima ne mu musango ne mu butuukirivu; n'amawanga ganeesabiranga omukisa mu ye, era mu ye mwe baneenyumiririzanga.” Kubanga bw'atyo Mukama bw'agamba abasajja ba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, so temusiganga mu maggwa Mwekomole eri Mukama, muggyeewo ebikuta eby'emitima gyammwe, era mwetukuze eri Mukama, mmwe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi; ekiruyi kyange kireme okufuluma ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.” Mulangirire mu Yuda, mulaalike mu Yerusaalemi; mwogere nti, “Mufuuwe ekkondeere mu nsi; mwogerere waggulu mwogere nti, ‘Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera!’ Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni, mudduke muwone, temulwawo, kubanga ndireeta obubi obuliva obukiikakkono n'okuzikiriza okunene.” Empologoma erinnye okuva mu kisaka kyayo, era omuzikiriza w'amawanga; akutte ekkubo, avudde mu kifo kye; okuzisa ensi yo, ebibuga byo abizise obutabaamu abibeeramu. Olw'ekyo mwambale ebibukutu, mukungubage muwowoggane, kubanga ekiruyi kya Mukama tekikyuse okutuvaako. “Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama, omutima gwa kabaka gulizikirira, n'omutima gw'abakulu; ne bakabona balisamaalirira ne bannabbi balyewuunya. Awo ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! mazima olimbye nnyo eggwanga lino ne Yerusaalemi ng'oyogera nti, ‘Muliba n'emirembe;’ naye ekitala kituutuuka ku mmeeme.” Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino ne Yerusaalemi nti, “Embuyaga ez'olubugumu eziva ku ntikko ze nsozi enjereere mu ddungu ezoolekera omuwala w'abantu bange, si za kuwujja so si za kulongoosa; embuyaga nnyingi, eziva ku ezo zirijja ku lwange. Kaakano nze kennyini nnaangirira emisango ku bo.” Laba, ajja ng'ebire, n'amagaali ge galiba ng'empewo ez'akazimu; embalaasi ze za mbiro okukira empungu. Zitusanze! Kubanga tuzikiridde. Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu obubi, olyoke olokoke. Ebirowoozo byo ebibi birituusa wa okubeera mu nda yo? Kubanga eddoboozi lirangirira nga lisinzira e Daani, era liraarika obubi nga lisinzira ku nsozi za Efulayimu. Mulabule amawanga nti, ajja; mulaalike Yerusaalemi nti, “Ababazingiza bava mu nsi ey'ewala, bawowoganira ebibuga bya Yuda n'eddoboozi lyabwe. Bakyetoolodde enjuyi zonna ng'abakuuma ennimiro; kubanga kyanjeemera,” bw'ayogera Mukama. Ekkubo lyo n'ebikolwa byo bye bikuleetedde ebyo; buno bwe bubi bwo; kubanga bwa bubalagaze, kubanga butuuka ne ku mutima gwo. “Obulumi bwange, Obulumi bwange!” Omutima gwange gunnuma munda mwennyini; omutima gwange gweraliikiridde munda yange; siyinza kusirika; kubanga owulidde ayi emmeeme, eddoboozi ly'ekkondeere, ery'olutalo nga liraya. Okuzikirizibwa okuddirirwa okuzikirizibwa kulangirirwa; kubanga ensi yonna eyonooneddwa, amangu ddala eweema zange zonooneddwa, n'entimbe zange mu kaseera bu seera. Ndituusa wa okulaba ebendera y'olutalo, n'okuwulira eddoboozi ly'ekkondeere? Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi; biwowongole by'abaana, so tebalina kutegeera, ba magezi mu kukola obubi, naye mu kukola obulungi tebalina kumanya. Nnalaba ensi, laba nga njereere, era nga yeetabuddetabudde; n'eggulu nga tekuli kitangaala. Nnalaba ensozi, era, laba, nga zikankana, obusozi bwonna ne buyuuguuma eruuyi n'eruuyi. N'atunula, era, laba, nga tewali muntu, n'ennyonyi zonna ez'omu bbanga nga zidduse. N'atunula, era, laba, ennimiro engimu nga zifuuse nkoola, n'ebibuga byamu byonna nga biri mu matongo olw'okujja kwa Mukama ne mu maaso g'ekiruyi kye. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Ensi yonna eriba nsiko; naye sirigisaanyizaawo ddala.” Ensi kyeriva ewuubaala, n'eggulu eriri waggulu liriddugala, kubanga nze nkyogedde, nkimaliridde, so sigenda kukyejjusa, so siridda mabega okukireka. Ekibuga kyonna kidduka olw'okuyoogaana kw'abo abeebagadde embalaasi n'ab'emitego; bayingira mu bisaka, ne balinnya ku mayinja; buli kibuga kirekeddwa, so tewali muntu atuula omwo. Naawe ggwe eyalekebwawo otegeeza ki bw'oyambala olugoye olutwakaavu, ne weeyonja n'ebintu ebya zaabu, n'okanula amaaso ng'osiigako langi? Omala biseera nga weeyonja; baganzi bo bakunyooma; banoonya obulamu bwo. Kubanga mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze obuli ng'obwoyo azaala omwana we omubereberye, eddoboozi ly'omuwala wa Sayuuni asika omukka, ayanjala engalo ze ng'ayogera nti, “Zinsanze kaakano! kubanga emmeeme yange ezirika mu maaso g'abassi.” Mudduke eruuyi n'eruuyi mu nguudo e'ze Yerusaalemi, mulabe nno, mumanye, munoonyeze mu bifo byamu ebigazi oba nga munaayinza okulaba omuntu, oba nga waliwo n'omu akola eby'ensonga, anoonya amazima; kale nnaakisonyiwa. Era wadde boogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu,” naye mazima balayira bya bulimba. Ayi Mukama, amaaso go tegatunuulira mazima? Obakubye, naye ne batanakuwala; obamazeewo, naye bagaanyi okubuulirirwa; bakakanyazizza obwenyi bwabwe okukira olwazi; bagaanyi okudda okwenenya. Awo ne njogera nti, “Mazima bano baavu, basirusiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama newakubadde amateeka ga Katonda waabwe. N'agenda eri abakulu ne njogera nabo; kubanga bo bamanyi ekkubo lya Mukama, n'amateeka ga Katonda waabwe. Naye bonna awamu bamenye ekikoligo n'omwoyo gumu ne bakutula ebisiba. Empologoma eva mu kibira kyeriva ebatta, omusege ogw'ekiro gulibanyaga, engo eriteegera mu bibuga byabwe, buli muntu ava omwo anaataagulwataagulwanga; kubanga okusobya kwabwe kungi n'okuseeseetuka kwabwe kweyongedde.” “ Nnyinza ntya okubasonyiwa? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayira abo abatali bakatonda. Bwe nnabaliisa okukkuta ne bayenda, ne bakuŋŋaanira ku nnyumba z'abakazi ab'enzi nga bali mu bibinja. Baali ng'embalaasi ezaaliisibwa obulungi, buli muntu ng'akayanira mukazi wa munne. Siribabonereza olw'ebyo?” Bw'ayogera Mukama, “era siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?” “Muyite wakati mu mizeyituuni gye, mugizikirize, naye temugimalirawo ddala; muggyeewo amatabi gaagyo, kubanga si ga Mukama. Kubanga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bankuusizzakuusizza nnyo nnyini, bw'ayogera Mukama. Beegaanyi Mukama ne boogera nti, ‘Si ye; so obubi tebulitujjira; so tetuliraba kitala newakubadde enjala. Bannabbi balifuuka mpewo, so nga n'ekigambo tekiri mu bo, bwe batyo bwe balikolebwa.’ ” Mukama Katonda ow'eggye kyava ayogera nti, “Kubanga boogedde ekigambo ekyo, laba, ndifuula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano okuba enku, era gulibookya. Laba, ndireeta ku mmwe eggwanga eririva ewala, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama, ggwanga lya maanyi, ggwanga lya dda, eggwanga ly'otomanyiiko lulimi, so totegeera bye boogera. Omufuko gwabwe ntaana eyasaamiridde, bonna basajja ba maanyi. Era balirya ebikungulwa byo n'emmere yo, batabani bo ne bawala bo bye bandiridde; balirya embuzi zo n'ente zo, balirya emizabbibu gyo n'emitiini gyo, balimenyaamenya n'ekitala ebibuga byo ebiriko enkomera bye weesiga.” “Era naye ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, siribasaanyizaawo ddala. Awo olulituuka abantu bwe balibabuuza nti, ‘Mukama Katonda waffe kiki ekimukozezza ffe ebyo byonna?’ Kale n'olyoka obagamba nti, ‘Nga mmwe bwe munvuddeko ne muweerereza bakatonda ba bannamawanga mu nsi yammwe, bwe mutyo bwe munaaweererezanga bannamawanga mu nsi eteri yammwe.’ ” Mulangirire kino mu nnyumba ya Yakobo, mukirangirire mu Yuda, nti, “Muwulire nno kino, mmwe abantu abasirusiru era abatalina kutegeera; abalina amaaso naye temulaba; abalina amatu naye temuwulira. Temuntya? bw'ayogera Mukama; Temuunkankanira? N'ateeka omusenyu okuba ensalo y'ennyanja olw'ekiragiro ekitaliggwaawo, n'okuyinza n'eteyinza kugusukkako; era amayengo gaayo ne bwe geesuukunda, naye tegayinza kuwagula; ne bwe gawuuma, naye tegayinza kugusukkako. Naye abantu bano balina omutima omuwaganyavu era omujeemu; bajeemye bagenze. So teboogera mu mutima gwabwe nti, ‘Tutye nno Mukama Katonda waffe awa enkuba, eya ddumbi ne ttoggo, mu ntuuko zaayo; atuterekera Ssabbiiti ez'ebikungulwa ezaateekebwawo.’ Obutali butuukirivu bwammwe bwe bubagyeeko ebyo, n'ebibi byammwe bye bibaziyiriza ebirungi. Kubanga abasajja ababi baasangibwa mu bantu bange; balabirira ng'abatezi b'ennyonyi bwe batega; batega omutego, era bakwasa bantu. Ng'ekisero bwe kijjula ennyonyi, ennyumba zaabwe bwe zijjula bwe zityo obulimba; kyebavudde bafuuka abakulu ne bagaggawala. Bagezze, banyiridde, weewaawo, basukkiriza ebikolwa eby'obubi; tebasala misango mu mazima, amazima g'oyo atalina kitaawe, balyoke balabe omukisa; so tebasalira baavu musango gwabwe. Siribabonereza olw'ebyo? Bw'ayogera Mukama. Siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?” Ekigambo eky'ekitalo era eky'ekivve kituukiridde mu nsi; bannabbi balanga bya bulimba, ne bakabona bafuga nga bwe baagala; n'abantu bange baagala kibeere bwe kityo, naye mulikola mutya nga enkomerero etuuse? Mudduke muwone, mwe abaana ba Benyamini, muve wakati mu Yerusaalemi, mufuuyire ekkondeere e Tekowa, muwanike akabonero ku Besukakkeremu, kubanga obubi buva e bukiikakkono, n'okuzikirira okunene. Omukkakkamu era eyakuzibwa n'obwegendereza, ndizikiriza omuwala wa Sayuuni. Abasumba n'ebisibo byabwe balijja okumulumba; balisimba eweema zaabwe okumwetooloola, baaliriisa ebisibo byabwe, buli muntu mu kifo kye ye. “Mwetegeke okulwana naye; muyimuke tulumbe mu ttuntu. Zitusanze! kubanga obudde bugenda, kubanga ebisiikirize eby'akawungeezi biwanvuwa.” “Muyimuke tulumbe kiro, tuzikirize embiri ze.” Kubanga Mukama ow'eggye ayogedde bw'ati nti, “Muteme emiti mutuume entuumo, ku Yerusaalemi. Kino kye kibuga ekiteekwa okubonerezebwa, kubanga temuli kirala wabula okunyigirizibwa mu kyo. Ng'amazzi bwe gakulukuta okuva mu luzzi, bwe kityo bwe kikulukuta obubi bwakyo; ekyejo n'okunyaga biwulirwa mu kyo; endwadde n'ebiwundu biba mu maaso gange bulijjo. Olabulwa ggwe Yerusaalemi, nneme okwawukana naawe; era nneme okukufuula amatongo, ensi omutali bantu.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Kungulira ddala ng'omuzabbibu abasigaddewo mu Isiraeri, ng'omunozi w'ezabbibu, zza nate omukono gwo mu matabi gaagwo.” Ani gwe mba njogera naye, era gwe nnalabula, alyoke awulire? Laba amatu gaabwe gagaddwa, era tebayinza kuwuliriza; laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu. Kyenvudde njijula ekiruyi kya Mukama; nkooye okukizibiikiriza. “Ekiruyi kiyiwe ku baana abato mu luguudo, wamu ne ku bavubuka abakkuŋŋaanye. Bombi omusajja ne mukazi we balitwalibwa, omukulu n'omukadde ennyo.” N'ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, ennimiro zaabwe n'abakazi baabwe wamu: kubanga ndigolola omukono gwange, ne mbonereza bonna abali mu nsi, bw'ayogera Mukama. “Kubanga okuva ku muto mu bo okutuuka ku mukulu mu bo buli muntu wa mululu; era okuva ku nnabbi okutuuka ku kabona buli muntu alyazaamaanya. Bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti, ‘Mirembe, mirembe;’ so nga emirembe tewali Baakwatibwa ensonyi bwe baakola eby'emizizo? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaamanya na kuswala. N'olwekyo kyebaliva bagwira mu abo abagwa; mu kiseera kye ndibabonerezaamu, mmwe balisiguukululirwa;” bw'ayogera Mukama. Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo. Naye ne boogera nti, ‘Tetuutambulire omwo.’ Ne mbateekako abakuumi ne mbagamba nti, ‘Muwulirize eddoboozi ly'ekkondeere!’ Naye ne boogera nti, ‘Tetuuwulirize.’ Kale muwulire, mmwe amawanga, mumanye, mmwe ab'ekkuŋŋaaniro, ebiribatuukako. Wulira, ggwe ensi; laba, ndireeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulirizza bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi. Omugavu oguva e Seeba gujjira ki gye ndi, oba emmuli ez'akaloosa eziva mu nsi ey'ewala? Bye muwaayo ebyokebwa tebikkirizika gye ndi, so ne ssaddaaka zammwe tezinsanyusa. Mukama kyava ayogera bw'ati nti,‘ Laba, nditeeka mu maaso g'abantu bano, enkonge ze bannesittalako; bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, muliraanwa n'owo mukwano balizikirira.’ ” Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Laba, waliwo eggwanga eriva mu nsi ey'obukiikakkono, era eggwanga ekkulu liriyimuka okuva ku nkomerero z'ensi. Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liringa okuwuuma kw'ennyanja, era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala, ng'omusajja bw'atalira olutalo, era beetegese okulwana naawe, ayi omuwala wa Sayuuni!” Tuwulidde ettutumu lyalyo; emikono gyaffe ne ginafuwa, obubalagaze butukutte era n'okulumwa ng'omukazi alumwa okuzaala. Temugenda mu ttale, wadde okutambulira mu kkubo; kubanga eriyo ekitala eky'omulabe n'entiisa enjuyi zonna. Ayi omuwala w'abantu bange, weesibe ebibukutu, weekulukuunye mu vvu; kungubaga ng'akungubagira mutabani we omu yekka, nga weesaasaabaga nnyo nnyini; kubanga omuzikiriza alitujjira nga tetumanyiridde. “ Nkufudde agezesa ebyuma, abantu bange balinga ebyuma; obagezese olyoke omanye, era okeme ekkubo lyabwe. Bonna bajeemu abatalabwa, era batambula nga bawaayiriza; bagumu nga ebikomo oba ebyuma; bonna bakola bikyamu. Omuliro gwaka nnyo mu kabiga, ekyuma ne kisaanuuka, naye ebiteetaagibwamu tebyesengejjamu, bateganira bwereere okulongoosa, kubanga ababi tebasimbulibwawo. Baliyitibwa masengere ga ffeeza, kubanga Mukama abagaanyi.” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti, “Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangiririre eyo ekigambo kino, oyogere nti, Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, nange ndibaleka okutuula mu kifo kino. Temwesiganga bigambo bya bulimba nti, ‘Eno ye Yeekaalu ya Mukama, ye Yeekaalu ya Mukama, ye Yeekaalu ya Mukama.’” “Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaabeeranga abenkanya buli muntu eri munne; bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so ne mutayiwa musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, era bwe mutatambulenga kugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini; kale ndibaleka okutuula mu kifo kino mu nsi gye nnawa bajjajjammwe obw'edda bwonna okutuusa emirembe gyonna.” “Laba, mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitayinza kugasa. Munabbanga, ne mutta, ne muyenda, ne mulayira eby'obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga, ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno eyatuumibwa erinnya lyange, ne mwogera nti, ‘Tuwonyezebbwa!’ mulyoke mukole emizizo egyo gyonna? Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama. Naye mugende nno mu kifo kyange ekyali mu Siiro, gye nnatuuza erinnya lyange olubereberye, mulabe kye nnakikola olw'obubi bw'abantu bange Isiraeri. Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama, ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba; kyendiva nkola ennyumba eyitibwa erinnya lyange, gye mwesiga, n'ekifo kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe, nga bwe nnakola Siiro. Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu.” “Kale tosabiranga bantu bano, so tobayimusirizanga kukaaba kwabwe, newakubadde okusaba kwabwe, so tonneegayiriranga, kubanga siikuwulire. Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi? Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta, okufumbira kabaka w'eggulu omukazi emigaati, n'okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansosonkereze okusunguwaza. Nze gwe basosonkereza? Bw'ayogera Mukama; Si nze naye tebeeswaza bo bennyini? Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange kirifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so tebulizikizibwa.” Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, “Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama. Kubanga ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri, ssaayogera ne bajjajjammwe era n'okubalagira eby'ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka. Naye kino kye nnabalagira nti, ‘Muwulirenga eddoboozi lyange, nange n'abanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange; era mutambulirenga mu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi.’ Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi, ne badda emabega so tebeeyongera mu maaso. Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, n'abatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma; era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne baakola obubi okusinga bajjajjaabwe.” “Era olibagamba ebigambo bino byonna; naye tebaalikuwulira; era olibakoowoola, naye tebaalikuyitaba. Era olibagamba nti,‘ Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa; amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe.’ ” Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku ntiko ze nsozi; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe olw'obusungu bwe, era abaleseeyo. “Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw'ayogera Mukama, batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona. Era bazimbye ebifo ebigulumivu eby'e Tofesi ekiri mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro; kye ssiragiranga so tekiyingirangako mu birowoozo byange. Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nti Kiwonvu kya ttambiro; kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu. N'emirambo gy'abantu bano giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko; so tewaliba alizisaggula. Awo ne ndyoka nkomya mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'essanyu, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, kubanga ensi erifuuka matongo.” “Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, amagumba ga bassekabaka ba Yuda, n'amagumba g'abakungu baabwe, n'amagumba ga bakabona, n'amagumba ga bannabbi, n'amagumba g'abantu abalala abali mu Yerusaalemi, baligaggya mu malaalo gaabwe. Kale baligaaliirira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'eggye lyonna ery'omu ggulu, bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, era bye baagobereranga mu kutambula kwabwe, era bye baanoonyanga, era bye baasinzanga; tegalikuŋŋaanyizibwa so tegaliziikibwa; galiba nga obusa ku ttaka kungulu. Era abo bonna abafisseewo ku kika kino ekibi, n'abo bonna abasigalawo mu bifo bino gye nnabagobera, baalyagala okufa okusinga obulamu, bw'ayogera Mukama w'eggye. “Era nate obagambanga nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Abantu baligwa ne batayimuka nate? Omuntu alikyama n'atadda? Kale abantu bano ab'omu Yerusaalemi kiki ekibazzizza emabega nga baseeseetuka obutayosa? Banywezezza obulimba, bagaanyi okudda. Nawuliriza n'obwegendereza, naye nga tewali ayogera bya mazima; tewali muntu yeenenya bubi bwe ng'ayogera nti, ‘Nkoze ki?’ Buli muntu yeeyongera kugenda mu maaso mu lugendo lwe ng'embalaasi efubutuka okugenda mu lutalo. Weewaawo, kasida ow'omu ggulu amanyi ebiseera bye ebyalagirwa; ne kaamukuukulu n'akataayi ne ssekanyolya zirabirira ekiseera mwe zijjira; naye abantu bange tebamanyi kiragiro kya Mukama.” “Mwogera mutya nti, ‘Tulina amagezi, n'amateeka ga Mukama gali naffe?’ Naye, laba ekkalaamu ey'obulimba ey'abawandiisi ewandiise ebitali bya mazima. Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa, laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo? Kyendiva bakazi baabwe mbawa abalala, n'ennimiro zaabwe, ndiziwa abo abalizirya; kubanga buli muntu, omuto era n'omukulu, wa mululu, nnabbi era ne kabona, buli muntu alyazaamaanya. Era ekiwundu eky'omuwala w'abantu bange, bakiwonyezza kungulu kwokka nga boogera nti, ‘Mirembe, mirembe;’ so nga tewali mirembe. Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eky'omuzizo? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kuswala; kyebaliva bagwira mu abo abagwa, bwe ndibabonereza balimeggerwa ddala, bw'ayogera Mukama. Bwe ndibakuŋŋaanya, bw'ayogera Mukama, ku muzabbibu tekuliba zabbibu, newakubadde ettiini ku mutiini, n'amalagala galiwotoka; n'ebintu bye nnabawa biribavaako.” Lwaki tutuula butuuzi? Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera, tufiire eyo; kubanga Mukama Katonda waffe atuwaddeyo tufe, era atunywesezza amazzi ag'omususa, kubanga twayonoona Mukama. Twasuubira emirembe, naye ne wataba birungi ebyajja; twasuubira ebiro eby'okuwonyezebwamu, era, laba, okukeŋŋentererwa! Okufugula kw'embalaasi ze kuwuliddwa ng'oyima e Ddaani; olw'eddoboozi ery'okukaaba kw'ensolo ze ez'amaanyi ensi yonna ekankana; kubanga zizze, era ziridde ensi ne byonna ebigirimu; ekibuga n'abo abakituulamu. “Kubanga, laba, ndisindika mu mmwe emisota, amasalambwa, agatayinza kuvumulwa; era galibaluma,” bw'ayogera Mukama. Ennaku yange teyinza kuwonyezebwa! Omutima gwange gulwadde munda yange. Laba, eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'omuwala w'abantu bange eriva mu nsi eri ewala ennyo nti, “Mukama tali mu Sayuuni? Kabaka waakyo tali mu kyo?” “Lwaki bansosonkereza okunnyiiza n'e bifaananyi byammwe ebyole, ne bakatonda ab'amawanga?” “Ebikungulwa biwedde, ekyeya kiyise, naffe tetulokose.” Kubanga omuwala w'abantu bange afumitiddwa ekiwundu, nange nfumitiddwa ekiwundu; nkungubaga era okusamaalirira kunkutte. Teri ddagala mu Gireyaadi? Teri musawo eyo? Kale kiki ekirobedde omuwala w'abantu bange okuwona? Omutwe gwange singa gubadde mazzi, n'amaaso gange singa luzzi lwa maziga, nnandikaabidenga emisana n'ekiro abo abattiddwa ab'omuwala w'abantu bange! Singa mbadde n'ekisulo eky'abatambuze mu ddungu; n'andirese abantu bange ne mbavaako! kubanga bonna benzi, kye kibiina eky'abasajja ab'enkwe. Baweta olulimi lwabwe ng'omutego, okulimba so si mazima kweyongera amaanyi mu nsi, kubanga bava mu bubi ne beeyongera mu bubi, so tebammanyi, bw'ayogera Mukama. Buli muntu yeekuumenga muntu munne, so temwesiganga wa luganda yenna; kubanga buli waluganda yeefuulira muganda we, na buli muntu atambulatambula ng'awaayiriza munne. Buli muntu alimba muntu munne, era tewali n'omu ayogera mazima; bayigirizza olulimi lwabwe okwogera eby'obulimba; bakola ebitali bya butuukirivu, beekooya tebagala kwenenya. Batuuma okunyigiriza ku kunyigiriza, obulimba ku bulimba; bagaana okummanya, bw'ayogera Mukama. Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa; kubanga nnandikoze ntya olw'omuwala w'abantu bange? Olulimi lwabwe kasaale akatta; lwogera eby'obulimba, buli omu ayogera ne munne eby'emirembe n'akamwa ke, naye ate amuteega mu mutima gwe. Siribabonereza olw'ebyo? Bw'ayogera Mukama, Siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo? “Tandika okukaaba amaziga n'okukungubagira ensozi, n'okwesaasaabaga olw'amalundiro ag'omu ddungu, kubanga gookeddwa, ne wataba agayitamu; so n'abantu tebakyawulira kuŋooŋa kwa nte; ennyonyi ez'omu bbanga era n'ensolo zidduse, zigenze. Era ndifuula Yerusaalemi okuba ebifunvu, ekisulo eky'ebibe; era ndifuula ebibuga bya Yuda okuba amatongo awatali abituulamu.” Musajja ki omugezigezi ayinza okutegeera kino? Era ani oyo akamwa ka Mukama gwe koogedde naye, akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese n'eba nkalu ng'eddungu, ne wataba ayitamu? Era Mukama ayogera nti, “Kubanga balese amateeka gange ge nnateeka mu maaso gaabwe so tebagondedde ddoboozi lyange so tebatambulidde mu go; naye ne batambula ng'obukakanyavu obw'omutima gwabwe, era ne bagoberera Babaali, nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza. Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndibaliisa abantu bano abusinso ne mbanywesa amazzi ag'omususa. Era ndibasaasaanyiza mu mawanga, ge batamanyanga bo newakubadde bajjajjaabwe, era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndimalira ddala okubazikiriza.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mulowooze, muyite abakazi abakungubazi, bajje; era mutumye n'abakazi abakalabakalaba, nabo bajje; era banguwe batanule okutukubira ebiwoobe, amaaso gaffe gakulukute amaziga, n'ebikowe byaffe bitiiriike amazzi. “Kubanga eddoboozi ery'ebiwoobe liwulirwa nga liva mu Sayuuni nti, ‘Nga tuzikiridde! tuswadde nnyo, kubanga twaleka ensi, kubanga basudde ennyumba zaffe.’ ” Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakazi, n'okutu kwammwe kukkirize ekigambo eky'omu kamwa ke, muyigirize abawala bammwe okukuba ebiwoobe, na buli muntu ayigirize munne okukungubaga. Kubanga okufa kulinnye ne kuyita mu madirisa gaffe, era kuyingidde mu mayu gaffe; okumalawo abaana mu bibuga, n'abalenzi mu nguudo. Mwogere nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Emirambo gy'abasajja girigwa ng'obusa ku ttale ebweru, era ng'ekinywa ekiri emabega w'omukunguzi, so tewaliba agikuŋŋaanya.’ ” “Bw'ati bw'ayogera Mukama” nti, “Omusajja omugezigezi teyeenyumirizanga olw'amagezi ge, so n'ow'amaanyi teyeenyumirizanga olw'amaanyi ge, so n'omugagga teyeenyumirizanga olw'obugagga bwe; naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga olwa kino, ng'ategeera era ng'amanyi nze nga ndi Mukama akola eby'ekisa n'eby'ensonga n'eby'obutuukirivu mu nsi; kubanga ebyo bye nsanyukira, bw'ayogera Mukama.” “ Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndibonereza abo bonna abakomolwa naye nga beeyisa nga abatakomolwanga; Misiri, Yuda, Edomu, n'abaana ba Amoni ne Mowaabu ne bonna abamwa oluge ku nviiri zaabwe, ababeera mu ddungu; kubanga amawanga gonna si makomole, n'ennyumba yonna eya Isiraeri si bakomole mu mutima gwabwe.” Muwulire ekigambo Mukama ky'abagamba, mmwe mmwenna ennyumba ya Isiraeri, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Temuyiganga mpisa za mawanga malala, so temweraliikiriranga bubonero bwa ku ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira. Kubanga empisa ez'amawanga, nkyamu. Omuti okuva mu kibira gutemebwa, era ne gukolebwako n'embazzi, n'omukono gw'omukozi. Abasajja baguyonja ne ffeeza ne zaabu; bagukomerera n'enninga n'ennyondo gulemenga okusagaasagana. Ebifaananyi byabwe bifaanana obufaananyi obukanga obuteekebwa mu nnimiro era tebyogera, basitula bisitule kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo.” Tewali afaanana ggwe, ayi Mukama; ggwe mukulu, n'erinnya lyo kkulu, lya buyinza. Ani atandikutidde, ayi Kabaka w'amawanga? Kubanga kukugwanira ggwe; kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe. Naye bo bonna wamu tebategeera era basirusiru; bayinza kuyigira ki ku bifaananyi byabwe eby'emiti? Ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu, abakugu; babyambaza kaniki n'olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gw'abasajja abakalabakalaba. Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo. Ensi ekankana olw'obusungu bwe, so n'amawanga tegayinza kugumiikiriza kunyiiga kwe. Bwe muti bwe muba mubagamba nti, “Bakatonda abataakola ggulu na nsi, abo balibula era balizikirizibwa okuva mu nsi n'okuva wansi w'eggulu.” Ye yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe; Bw'aleeta eddoboozi lye, ne waba oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa olufu okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge. Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole; kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo. Tebiriiko kye bigasa, mulimu gwa bulimba; mu kiseera eky'okubonerezebwa kwabyo birizikirira. Obutafaanana ebyo ye gwe mugabo gwa Yakobo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe, Mukama w'eggye lye linnya lye. Kuŋŋaanya ebintu byo okuva ku ttaka, ggwe atuula mu kibuga ekizingizibwa. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi, ne mbaggyamu mu biro bino, era ndireeta okunyolwa kubo balyoke bakuwulire.” Zinsanze olw'ekiwundu kyange! Ekiwundu kyange kinnuma nnyo, naye ne njogera nti, “Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza.” Eweema yange ezikiriziddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse; abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo; tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okussaawo entiimbe zange. Kubanga abasumba basirusiru, so tebabuuzizza Mukama; kyebavudde balema okulaba omukisa, n'ebisibo byabwe byonna bisaasaanye. Eddoboozi ery'ekigambo kye babuulira, laba, lijja, n'okusasamala okunene okuva mu nsi ey'obukiikakkono, okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ekisulo eky'ebibe. Ayi Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini; tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye. Ayi Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza. Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo; kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde era bamumize, bamumazeewo, bazisizza ekifo mw'abeera. Ekigambo ekyajja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama, “Muwulire ebigambo eby'endagaano eno, era oyogere n'abasajja ba Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi. Obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, akolimirwe omusajja yenna atawulira bigambo bya ndagaano eno, gye n'alagira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, ne njogera nti Muwulire eddoboozi lyange, mukolenga byonna bwe biri bye mbalagira; bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe, ndyoke nnywezenga ekirayiro kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga bwe kiri leero.” Awo ne ndyoka nziramu ne njogera nti, “ Amiina, ayi Mukama.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ng'oyogera nti, Muwulire ebigambo eby'endagaano eno era mubikole. Kubanga nnalabulira ddala bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri; ne mbalabula obutasalako n'okutuusa leero, nga njogera nti, Mugondere eddoboozi lyange. Naye ne batagonda so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira buli muntu mu bukakanyavu bw'omutima gwe omubi; kyennava mbaleetako ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nnabalagira okukolanga, naye ne batabikola.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “ Waliwo okwekobaana mu basajja ba Yuda ne mu abo ababeera mu Yerusaalemi. Bakyuse okudda mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange; era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga, ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nnalagaana ne bajjajjaabwe.” N'olwekyo bwati bwayogera Mukama nti, Laba, ndibaleetako obubi bwe bataliyinza kuwona; era balinkaabirira, naye siribawuliriza. Awo ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi baligenda ne bakaabirira bakatonda be bootereza obubaane; naye tebasobola n'akamu kubalokola mu biro mwe balabira ennaku. Ba katonda bammwe bafuuse bangi, nga ebibuga byammwe nga bwe byenkana obungi, ayi Yuda; era ng'enguudo ez'e Yerusaalemi bwe zenkana obungi, bwe mutyo bwe muzimbye ebyoto ekintu ekikwasa ensonyi, ebyoto eby'okwoterezangako obubaane eri Baali. “Kale ggwe tosabiranga bantu bano, so tobayimusirizanga kukaaba newakubadde okusaba ku lwabwe, kubanga siribawuliriza bwe balinkoowoola mu biro mwe balirabira ennaku.” “Muganzi wange alina buyinza ki mu nnyumba yange nga akoze ebikolwa ebiswaza? Ebirayiro n'okuwaayo omubiri nga ssaddaaka biyinza okukyusa okuzikirira kwo? Oyinza okusanyuka olw'ebyo? Mukama yakutuuma erinnya nti, Omuzeyituuni ogwera, omulungi nga guliko ebibala ebirungi; naye n'eddoboozi ery'oluyoogaano olunene agukumyeko omuliro, amakoola gagwo gayidde n'amatabi gaagwo gamenyese. Kubanga Mukama w'eggye eyakusimba, akulangiriddeko obubi, olw'obubi bw'ennyumba ya Isiraeri n'obwennyumba ya Yuda bwe baakola ne bansunguwaza nga bootereza Baali obubaane.” Awo Mukama n'akimmanyisa ne nkimanya, kale n'olyoka ondaga ebikolwa byabwe. Naye nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa; so ssaamanya nga bansalidde enkwe, nga boogera nti, “Tuzikirize omuti wamu n'ebibala byagwo, tumuzikirize okuva mu nsi ey'abalamu, erinnya lye baleme okulijjukira nate. Naye, ayi Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga, akema emmeeme n'omutima, ka ndabe eggwanga ly'oliwalana ku bo, kubanga gwe ntegeezezza ensonga zange.” Mukama kyava ayogera bw'ati eby'abasajja aba Anasosi abanoonya obulamu bwo nga boogera nti, “Toyogereranga mu linnya lya Mukama, omukono gwaffe guleme okukutta,” Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, ndibabonereza; abavubuka bammwe balifa kitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa njala; so tewaliba n'omu alifikkawo. Kubanga ndireeta obubi ku basajja abe Anasosi, mu mwaka ogw'okubabonererezaamu.” Oli mutuukirivu, ayi Mukama, ne bwe nkwemulugunyiza, naye era nnandibadde mpoza ensonga yange mu maaso go. Lwaki ekkubo ery'ababi liraba omukisa? Lwaki abalimbalimba bakulakulana? Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi ne bamera; weewaawo, ne babala n'ebibala; oli kumpi na kamwa kaabwe, naye oli wala n'emitima gyabwe. Naye ggwe, ayi Mukama, ommanyi; ondaba n'okema omutima gwange bwe gufaanana gy'oli. Basike ng'endiga ez'okusalibwa, obategekere olunaku olw'okuttirwako. Ensi erituusa wa okuwuubala, era omuddo gwonna ogw'oku ttale ne guwotoka? Kuba olw'obubi bw'abo abagirimu, ensolo n'ennyonyi kyeziva zimalibwawo; kubanga abasajja bagamba nti, “Katonda taliraba nkomerero yaffe.” “Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere, naye ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? Oba mu nsi ey'emirembe ogudde, olikola otya mu bibira bya Yoludaani? Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyerimbye; bonna bakukabirira, tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.” “Ndese ennyumba yange, nsudde obusika bwange, mpaddeyo oyo emmeeme yange gw'eyagala ennyo nnyini mu mukono gw'abalabe be. Obusika bwange bufuuse gye ndi ng'empologoma mu kibira, anyimusirizaako eddoboozi lye; kyenvudde mmukyawa. Obusika bwange buli gye ndi ng'ennyonyi eyigga ey'amabala? Ennyonyi eziyigga zimulumbye enjuyi zonna? Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu nsiko, muzireete zirye. Abasumba bangi boonoonye olusuku lwange olw'emizabbibu, balinnyiridde omugabo gwange n'ebigere, omugabo gwange ogusanyusa bagufudde ddungu omutali muntu. Bagufudde matongo; guwuubala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissako mwoyo. Abanyazi batuuse ku ntikko ze nsozi zonna enjereere ez'omu ddungu; kubanga ekitala kya Mukama kirya okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi, tewali kintu ekirina omubiri ekirina emirembe. Basiga eŋŋaano, naye bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasiddwa, era balikwatibwa ensonyi olw'ebikungulwa byabwe, olw'obusungu bwa Mukama.” Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bikwata ku baliraanwa bange bonna ababi abakwata obusika bwe nawa abantu bange Isiraeri okubusikira nti, “ Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula n'ennyumba ya Yuda wakati mu bo. Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe. Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, n'okulayira erinnya lyange nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu;’ era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange. Naye eggwanga lyonna bwe litalikkiriza kuwulira, awo ndirisimbulira ddala, era ne ndizikiriza, bw'ayogera Mukama.” Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda weegulire ekimyu eky'olugoye, okyesibe mu kiwato kyo, so tokinnyika mu mazzi.” Awo ne nneegulira ekimyu eky'olugoye, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, ne nkyesiba mu kiwato kyange. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja gyendi omulundi ogwokubiri, nti, Ddira ekimyu eky'olugoye kye wagula ekiri mu kiwato kyo, osituke ogende ku mugga Fulaati, okikweke eyo mu lwatika oluli mu lwazi. Awo ne ŋŋenda ne nkikweka ku mugga Fulaati, nga Mukama bwe yandagira. Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n'aŋŋamba nate nti, “Situka ogende ku mugga Fulaati oggyeyo ekimyu eky'olugoye kye nnakulagira okukweka eyo.” Awo ne ŋŋenda ku mugga Fulaati ne nsima nnenziggya ekimyu eky'olugoye mu kifo mwe nnali nkikwese. Kale, laba, ekimyu eky'olugoye nga kyonoonese, nga tekikyaliiko kye kigasa. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja nate gyendi nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndizikiriza amalala ga Yuda n'amalala amangi aga Yerusaalemi. Abantu bano ababi bagaana okuwulira ebigambo byange, era batambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'ekimyu eky'olugoye kino ekitaliiko kye kigasa. Kuba nga ekimyu eky'olugoye bwe kyegatta n'ekiwato ky'omuntu, bwe ntyo nange bwe nneegasse n'ennyumba yonna eya Isiraeri n'ennyumba yonna eya Yuda,” bw'ayogera Mukama, “balyoke babeerenga gye ndi eggwanga era erindetera ettendo era ne kitiibwa: naye ne batayagala kuwulira. “Kyoliva obagamba ekigambo kino nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, Buli kita kirijjula omwenge.’ Nabo balikugamba nti, Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge?” “Awo n'olyoka obagamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndijjuza obutamiivu abantu bonna abali mu nsi eno, bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, ne bakabona, ne bannabbi, ne bonna abali mu Yerusaalemi. Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw'ayogera Mukama. Sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, obutabazikiriza.” Muwulire, mutege amatu; temuba na malala, kubanga Mukama ayogedde. Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga tannaleeta kizikiza era ng'ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez'ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekisiikirize eky'okufa n'aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte. Naye bwe mutalikkiriza kuwulira emmeeme yange erikaaba amaziga kyama olw'amalala gammwe; n'amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa. Gamba kabaka ne nnamasole nti, “Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkanye, n'engule ey'ekitiibwa kyammwe evudde ku mitwe ggyammwe. Ebibuga eby'obukiikaddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo, Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe.” “Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiikakkono.” Kiri ludda wa ekisibo kye waweebwa, ekisibo kyo ekirungi? Olyogera otya, bwe balikuteekako okukufuga abo ggwe kennyini be wayigiriza okuba mikwano gyo? Obuyinike tebulikukwata ng'omukazi alumwa okuzaala? Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti, Lwaki ebigambo bino byonna binzijjidde? Bizze olw'okweyongera kw'obutali butuukirivu bwo, engoye zo zibikuddwa, era oboonaabona n'obukambwe. Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw'omubiri gwe, oba engo eyinza okukyusa amabala gaayo? Kale nammwe temuyinza kukola bulungi abaamanyiira okukola obubi. Kyendiva mbasaasaanya ng'ebisasiro bwe bisaasaanyizibwa embuyaga ez'omu ddungu. Guno gwe mugabo gwe nnakugerera, bw'ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba. Nange kyendiva mbikkula engoye zo, mu maaso go, n'ensonyi zo zirirabika. Nnalaba emizizo gyo, obwenzi bwo, n'obukaba bwo obuyitiridde obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ayi Yerusaalemi! Kinatwala bbanga ki ggwe okulongoosebwa? Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nga kikwata ku kyanda. “Yuda akungubaga, n'enzigi ze ziyongobera; abantu be banyolwa nga batudde ku ttaka, n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye. N'abakungu baabwe batuma abakozi baabwe emugga; batuuka ku nzizi, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga nkalu; ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe. Olw'ettaka eryatise, kubanga enkuba tetonnyanga mu nsi, abalimi kyebaava bakwatibwa ensonyi, babikka ku mitwe gyabwe. Weewaawo, n'empeewo eri ku ttale ezaala, n'ereka omwana gwayo olw'obutabaawo muddo. N'entulege ziyimirira ku nsozi enjereere, ziwejjawejja olw'empewo ng'ebibe; amaaso gaazo gaziba olw'obutabaawo bimera.” “Newakubadde obutali butuukirivu bwaffe nga butulumiriza, baako ky'okola, ayi Mukama olw'erinnya lyo, kubanga okudda kwaffe emabega kungi; era twakwonoona. Ayi, ggwe essuubi lya Isiraeri, omulokozi we mu biro eby'okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng'omuyise mu nsi, era ng'omutambuze asula ekiro ekimu? Wandibeeredde ki ng'omusajja asobeddwa, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? So nga ggwe, ayi Mukama, oli wakati muffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.” Bw'ati bw'agamba Mukama ebikwata ku bantu bano, “Baayagalanga okuwaba, bwe batyo tebaziyizanga bigere byabwe; n'olwekyo Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe.” Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi. Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.” Awo ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi bagamba abantu nti, ‘Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye Mukama alibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.’ ” Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi boogera eby'obulimba mu linnya lyange, saabatuma so saabalagira so ssaayogera nabo. Baabagamba okwolesebwa okw'obulimba n'ebigambo bye baabagamba tebiriimu, wabula obukuusa obw'omu mutima gwabwe.” “N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwatagana ne bannabbi aboogerera mu linnya lyange so nga saabatuma, naye ne boogera nti, ‘Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno,’ Ekitala n'enjala bye birizikiriza bannabbi abo. N'abantu be bategeeza balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaalemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe. Kubanga ndifuka obubi bwabwe ku bo bennyini.” “ Era olibagamba ekigambo kino nti, ‘Muleke amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro, era galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja afumitiddwa ekiwundu ekinene, n'olukuba olw'obulumi.’ Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala! era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala! kubanga nnabbi era ne kabona batambulatambula mu nsi, nga bategeeza abantu nabo bye batamanyi.” “Ogaanidde ddala Yuda? Emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? Lwaki otufumitidde ddala, so nga tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi bye twafuna; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, twajjirwa ekikangabwa! Tukkiriza obubi bwaffe, Ayi Mukama, n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, kubanga twakwonoona. Totusuula olw'erinnya lyo; tonyoomesa kitiibwa kya nnamulondo yo; jjukira era tomenya ndagaano gye walagaana naffe. Waliwo mu ba katonda ab'amawanga ayinza okutonnyesa enkuba? Oba eggulu liyinza okuleeta empandaggirize? Si ggwe wuuyo, ayi Mukama Katonda waffe? Kyetunaavanga tuteeka essuubi lyaffe ku ggwe; kubanga ggwe wabikola ebyo byonna.” Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Newakubadde nga Musa ne Samwiri bandiyimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano. Bagobe bave mu maaso gange, era obaleke bagende! Awo olulituuka bwe balikubuuza nti, ‘Tunagenda wa?’ Kale n'obagamba nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.’” “Era ndibalondera engeri nnya ez'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama, ekitala okutta, embwa okutaagula, ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza. Era ndibafuula entiisa eri obwakabaka bwonna obw'ensi, olw'ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.” “Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyuka n'abuuza ebifa gy'oli? Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze emabega, kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okukusaasira. Mbaweye n'ekiwewa eky'ekyuma mu miryango egy'ensi; mbafudde abakungubaga, nzikirizza abantu bange; Tebakomawo okuva mu makubo gaabwe. Nfudde bannamwandu baabwe okuba abangi okusinga omusenyu ogw'ennyanja ndeese ku bannyina ba bavubuka abato omuzikiriza mu ttuntu, mbatuusizako obubalagaze n'ebitiisa okubagwira amangu. Eyazaala abaana omusanvu ayongobera era azirise; obulamu bumuggwaamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde; n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.” Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna! Siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira. Kale kituukirire ayi Mukama, bwemba nga sakwegayirira olw'obulungi bwabwe, era bwemba ssaasabira mulabe wange mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu. Omuntu ayinza okumenya ekyuma, naddala ekyuma ekiva e bukiikakkono, oba ekikomo? “Ebintu n'obugagga eby'abantu bange ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, bye bakoze mu ggwanga lyonna. Ndibaleeta okuweereza abalabe bammwe mu nsi gy'otomanyi, kubanga olw'obusungu bwange omuliro gukumiddwa, era gujja kwaka emirembe gyonna.” “Ayi Mukama, ggwe omanyi; nzijukira onkyalire, ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya; olw'obugumiikiriza bwo tonzigirawo ddala, manya nga nvumiddwa nnyo okunnanga ggwe. Ebigambo byo nnabizuula, ne mbirya, era ebigambo byo byali bya ssanyu gye ndi, n'omutima gwange ne gujjula okusanyuka; kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ayi Mukama Katonda ow'eggye. Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so ssaasanyuka, n'atuula nzeka kubanga omukono gwali ku nze, kubanga onzijuzizza obusungu. Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, kiganira ki okuwonyezebwa? Oliba gye ndi ng'akagga akalimba ng'amazzi agaggwaawo?” Mukama kyava ayogera bw'ati nti, “Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange. Balidda gy'oli naye ggwe toddanga gyebali. Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula, kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama. Era ndikuwonya mu mukono gw'ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw'ab'entiisa.” Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi, “Towasanga mukazi, so tozaalira baana ba bulenzi newakubadde ab'obuwala mu kifo kino.” Kubanga bwati bw'ayogera Mukama ebikwata ku baana ab'obulenzi n'ab'obuwala abazaalirwa mu kifo kino ne bannyaabwe ababazaala n'ebya bakitaabwe ababaazaalira mu nsi muno. Balifa endwadde embi ennyo, tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng'obusa ku ngulu ku ttaka, era balimalibwawo n'ekitala n'enjala; n'emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga era ya nsolo ez'omu nsi. “ Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Toyingira mu nnyumba mwe bakungubaga, so togenda kukuba biwoobe, so tobakaabira; kubanga nzigye emirembe gyange ku bantu bano,’ bw'ayogera Mukama, era mbaggyeeko ekisa n'okusaasira okulungi. Abakulu era n'abato balifiira mu nsi eno, tebaliziikibwa so n'abantu tebalibakungubagira, era tewaliba n'omu alyeemwa oba alyeesala ekiwalata ku lwabwe. Tewaliba awa mukungubazi mmere okumukubagiza olw'okufiirwa, wadde okumuwa eky'okunywa okumubudabuda, ne bw'aliba ng'afiiriddwa kitaawe oba nnyina. So toliyingira mu nnyumba mwe baliira embaga, okutuula nabo, okulya n'okunywa. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Laba, ndikomya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyali balamu, eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n'eddoboozi ly'omugole.” “Awo olulituuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti, Kiki eky'ogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene ku ffe? Oba atulanga ki? Oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe? Kale n'olyoka obagamba nti, ‘Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw'ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange; era kubanga mukoze bubi okusinga bajjajjammwe; kubanga, laba, mutambula buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli, nga mugaana okumpuliriza; kyendiva mbagoba mu nsi eno ne mu genda mu nsi gye mutamanyanga, mmwe newakubadde bajjajjammwe; era munaaweererezanga eyo bakatonda abalala emisana n'ekiro; kubanga siribalaga kisa n'akatono.’ ” “Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, nga tekikyayogerwa nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;’ naye nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiikakkono ne mu matwale gonna gye yali abagobedde,’ era ndibakomyawo mu nsi y'ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe.” “Laba, nditumya abavubi bangi, bw'ayogera Mukama, era balibavuba; oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, era balibayigga okubaggya ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu bunnya obw'omu mayinja. Kubanga amaaso gange gatunuulira amakubo gaabwe gonna, tewali kinkisibwa, so n'obutali butuukirivu bwabwe tebukwekebwa maaso gange. Era ndisasula nga nkubisizaamu emirundi ebiri; obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe; kubanga bayonoona ensi yange n'emirambo egy'ebintu byabwe eby'ebivve, era bajjuzizza obusika bwange emizizo gyabwe.” Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, era obuddukiro bwange ku lunaku olw'okulabiramu ennaku, eri ggwe amawanga gonna gye galijja nga bava ku nkomerero z'ensi, era balyogera nti, “Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere, birerya, era bigambo ebitaliiko kye bigasa. Omuntu ayinza okwekolera bakatonda? Abo bwe batyo si ba katonda!” “N'olwekyo, laba, ndibamanyisa, omulundi guno gwokka, ndibamanyisa obuyinza bwange, era n'amaanyi gange; era balimanya ng'erinnya lyange nze Mukama.” “Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n'ekkalaamu ey'ekyuma, n'akasongezo ka alimansi kyoleddwa ku kipande eky'omutima gwabwe, era ne ku mayembe g'ebyoto byammwe; ng'abaana baabwe bajjukira ebyoto byabwe ne ba Asera, baabwe awali emiti egimera ku nsozi empanvu, ne ku nsozi eziri mu nnimiro. Eby'obugagga byo byonna n'ebintu byo byonna eby'omuwendo, ndibiwaayo ng'omunyago, okusasulira okwonoonakwo mu nsalo zo zonna. Naawe ku bubwo wekka oliva mu busika bwo bwe nnakuwa; era ndikuleetera okuweereza abalabe bo mu nsi gy'otomanyi; kubanga mu busungu bwange omuliro gukumiddwa okwaka emirembe gyonna.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Akolimiddwa omusajja oyo eyeesiga abantu, n'afuula omubiri okuba ensibuko ya maanyi ge, n'omutima gwe ne guva ku Mukama. Kubanga alifaanana omwoloola oguli mu ddungu, so taliraba ebirungi ebirijja; naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey'omunnyo eteriimu bantu. “ Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama nga lye ssuubi lye. Kubanga aliba ng'omuti ogwasimbibwa awali amazzi, emirandira gyagwo ne gikula nga gidda awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galyera; so tegulyeraliikiririra mu mwaka ogw'ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala.” Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka; ani ayinza okugutegeera? “ Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, era ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa bye.” Ng'enkwale bw'ekuŋŋaanya obwana bw'etezaalanga, bw'atyo bw'abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; nga akyali mu nnaku ez'okweyagala, obugagga bulimuvaako, ne ku nkomerero ye aliba musirusiru. Nnamulondo ey'ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye, kye kifo kyaffe eky'awatukuvu. Ayi Mukama, essuubi lya Isiraeri, bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi; abakusenguka baliwandiikibwa ku ttaka, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw'amazzi amalamu. Mponya, ayi Mukama, nange nnaawona; ndokola, nange nnaalokoka; kubanga ggwe oli ttendo lyange. Laba, baŋŋamba nti, “Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa? Kijje nno!” Nze sikunyigirizangako kuleeta kabi, so sseegombanga lunaku olw'okulabirako ennaku; ggwe omanyi; ekyava mu mimwa gyange kyabanga mu maaso go. Tobeera ntiisa gye ndi; kubanga ggwe oli buddukiro bwange ku lunaku olw'okulabiramu obubi. Bakwatibwe ensonyi abo abanjigganya, naye nze nneme okukwatibwa ensonyi; bo bakeŋŋentererwe, naye nze nneme okukeŋŋentererwa; baleeteko olunaku olw'okulabiramu obubi, obazikirize n'okuzikirira okw'emirundi ebiri. Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Yeremiya genda oyimirire mu Mulyango ogwa Benyamini, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira era mwe bafulumira, okole bw'otyo ne mu miryango gyonna egy'e Yerusaalemi; obagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bakabaka ba Yuda, ne Yuda yenna ne bonna abali mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino.’ ” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Mwekuume olw'obulamu bwammwe, muleme okusituliranga omugugu gwonna ku lunaku lwa Ssabbiiti, so temuguyingirizanga mu miryango egy'e Yerusaalemi. Era temwetikkanga mugugu gwonna okugufulumya mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa Ssabbiiti, so temukolanga mulimu gwonna, naye mutukuzanga olunaku olwa Ssabbiiti nga bwe nnalagira bajjajjammwe. Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe baleme okuwulira era baleme okukkiriza okuyigirizibwa. “ Awo olulituuka, bwe munaanyiikiranga okumpulira, bw'ayogera Mukama, ne mutaleeta mugugu gwonna okuguyisa mu miryango gy'ekibuga kino ku lunaku olwa Ssabbiiti, naye bwe munaatukuzanga olunaku olwa Ssabbiiti obutalukolerangako mulimu gwonna; kale mu miryango gy'ekibuga kino munaayingirangamu bakabaka n'abalangira abatuula ku ntebe ya Dawudi, nga bali ku magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n'abakungu baabwe, abasajja ba Yuda, n'abo bonna abatuula mu Yerusaalemi; n'ekibuga kino kinaabangamu abantu lubeerera. Era abantu balijja nga bava mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi ne mu nsi ya Benyamini, okuva mu Sefala ne mu nsi ey'ensenyi ne ku nsozi ne mu bukiikaddyo, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka n'ebitone n'omugavu, era nga baleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Naye bwe mutampulirenga okutukuza olunaku olwa Ssabbiiti, obutatwalanga mugugu newakubadde okuyingiriranga mu miryango gy'e Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti; kale ndikumira omuliro mu miryango gyakyo, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi, so tegulizikizibwa.” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, “Situka oserengete mu nnyumba ey'omubumbi, era eyo gye nnaakuwulizisa ebigambo byange.” Awo ne nserengeta eyali ennyumba ey'omubumbi, kale, laba, ng'akolera omulimu gwe ku bannamuziga. Awo ekintu kye yabumbanga bwe kyayonoonekeranga mu mukono gw'omubumbi, yaddiranga ebbumba, n'abumbamu ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiimanga. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja gyendi nga kyogera, “Ayi ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? Bwayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ayi ennyumba ya Isiraeri. Singa mba njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, nti ŋŋenda, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza; naye eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola. Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, nti ŋŋenda, okulizimba n'okulisimba; naye bwe lirikola obubi mu maaso gange, ne batawulira ddoboozi lyange, kale ndikyusa obulungi bwe nnayogera okubakola. Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti, ‘Laba, nteesa obubi ku mmwe era nteeketeeka okubabonereza, mukomewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.’” “Naye bo ne boogera nti, ‘Tewali ssuubi! kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli.’ ” “N'olwekyo bwati bwayogera Mukama nti, Mubuuze nno mu mawanga, oba eriyo eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo? Omuwala wa Isiraeri atamanyi musajja akoze ekigambo eky'ekivve ennyo. Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? Amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira? Kubanga abantu bange banneerabidde, booterezza ba katonda obubaane; beesittadde mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, ne batambulira mu mpenda, ne mu kkubo eritali ssende; okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe. Nga embuyaga eziva ebuvanjuba, ndibasaasaanya mu maaso g'abalabe baabwe. Nditunuulira amabega gaabwe so si mu maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike.” Awo ne balyoka boogera nti, “Mujje tusalire Yeremiya amagezi; kubanga amateeka tegalibula awali kabona, newakubadde okuteesa awali ow'amagezi, newakubadde ekigambo awali nnabbi. Mujje tumukube n'olulimi era tuleme okussaayo omwoyo eri ebigambo bye n'ekimu.” Ssaayo omwoyo gyendi, ayi Mukama, owulire okwegayirira kwange. Obubi bulisasulwa olw'obulungi? Naye basimye obunnya olw'obulamu bwange. Jjukira bwe nnayimiriranga mu maaso go, okuboogerera ebirungi, okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko. Kale waayo abaana baabwe bafe enjala, obagabule eri obuyinza bwe kitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo. Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina kya banyazi nga tebamanyiridde; kubanga basimye obunnya okunsuulamu, era bakwekedde ebigere byange ebyambika. Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go, naye basuulibwe mu maaso go; obabonereze mu kiseera eky'obusungu bwo. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ery'omubumbi, otwale ku bakadde b'abantu ne ku ba bakabona abakulu; ofulume okugenda mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakugamba. Onooyogera nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda, nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyanaamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira. Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo obubaane eri bakatonda abalala, be batamanyanga, bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi gw'abantu abataliiko musango; era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragiranga so saakyogera so tekinzijirangako na mu mwoyo gwange; kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekifo kino nga tekikyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, naye nti Kiwonvu eky'okuttirwamu. Era mu kifo kino ndisaanyaawo okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi; era ndibasuula n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe; n'emirambo gyabwe ndigigabula okuba eby'okulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi. Era ndifuula ekibuga kino ekyewuunyo era eky'okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna. Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe, mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe balibanyigiriza.’” “Awo n'olyoka omenya ensumbi eyo, abasajja abagenda naawe nga balaba, n'obagamba nti,‘ Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu eky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate. Abasajja baliziika mu Tofesi kubanga tewaliba kifo kyonna kirala eky'okuziikamu. Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino, bw'ayogera Mukama, n'abakituulamu, nga nfuula ekibuga kino okuba nga Tofesi. Ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eri eggye lyonna ery'eggulu, era ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa, ziriba zoonoonese ng'ekifo Tofesi.’ ” Awo Yeremiya n'ajja ng'ava e Tofesi Mukama gye yali amutumye okwogera ebigambo; n'ayimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakirangirirako; kubanga bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira ebigambo byange.” Awo Pasukuli kabona mutabani wa Immeri, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n'awulira Yeremiya ng'ayogera ebigambo ebyo. Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi, n'amusiba mu nvuba eyali ku mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama. Awo olwatuuka enkya, Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti, “ Mukama takyayita linnya lyo Pasukuli wabula akuyita Magolumissabibu. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna. Baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba, era ndiwaayo Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alibatwala e Babbulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala. Era nate ndiwaayo obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babbulooni. Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe; era olituuka e Babbulooni, olifiira eyo, oliziikibwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be wagamba eby'obulimba.” Ayi Mukama, wannimba era nange ne nnimbibwa, onsinga amaanyi era ompangudde. Nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira. Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu nti, “Okunyaga n'okuzikiriza!” Kubanga ekigambo kya Mukama kifuuse gyendi ekivume era eky'okusekererwa okuzibya obudde. Era bwe njogera nti, “Siimwogereko, so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuli omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuguwanirira, era sisobola.” Kubanga mpulira obwama. Entiisa eri ku buli ludda! “Mu mwegaane! Muleke tumwegaane!” Bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, nga balindirira okugwa kwange. “Oboolyawo anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga.” Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa; abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula, baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa ensonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna. Naye, ayi Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, nsaba ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga gyoli gye ntadde ensonga yange. Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama! Kubanga awonyezza emmeeme y'oyo eyeetaaga mu mukono gw'abo abakola obubi. Lukolimirwe olunaku lwe nnazaalirwako! Olunaku mmange kwe yanzaalira luleme okuweebwa omukisa. Akolimirwe oyo eyaleetera kitange amawulire agamusanyusa nti, “Ozaaliddwa mwana wa bulenzi.” Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula nga tasaasidde; awulire okukaaba enkya, n'okwogerera waggulu mu ttuntu; kubanga teyanzita bwe nali nkyali mu lubuto; bw'atyo mmange yandibadde entaana yange, n'olubuto lwe lwandibadde lukulu ennaku zonna. Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, era n'okumala ennaku zange zonna mu nsonyi? Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya owa Yuda, bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ng'ayogera nti, “Nkwegayiridde, tubuulize eri Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni atutabaala; mpozzi Mukama anaatukola ng'ebikolwa bye byonna eby'ekitalo bwe biri, era Nebukadduneeza anaatuvaako.” Awo Yeremiya n'abagamba nti, “Mugambe Zeddekiya nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndizza emabega eby'okulwanyisa ebiri mu mikono gyammwe bye mulwanyisa ne kabaka w'e Babbulooni n'Abakaludaaya ababazingiza, abali ebweru wa bbugwe, era ndibakuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino. Nange mwene ndirwana nammwe n'engalo ezigoloddwa n'omukono ogw'amaanyi, nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era n'obukambwe obungi. Era nditta abali mu kibuga kino, abantu era n'ensolo; balifa kawumpuli ow'amaanyi.” Awo oluvannyuma, bw'ayogera Mukama ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abaddu be n'abantu, abo bonna mu kibuga kino, abaliwona kawumpuli n'ekitala n'enjala, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni ne mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe; era alibatta n'obwogi bw'ekitala; talibasonyiwa so talibakwatirwa kisa so talibasaasira. “Era ogambanga abantu bano nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa. Abeera mu kibuga muno alifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli; naye oyo akivaamu n'asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n'obulamu bwe buliba ng'omunyago gy'ali. Kubanga ntadde amaaso gange ku kibuga kino, okukireetako obubi so si bulungi, bw'ayogera Mukama, kirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikyokya omuliro.” “Era eri ennyumba ya kabaka wa Yuda yogera nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama, Mmwe ennyumba ya Dawudi,’ bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Musalenga emisango buli nkya, era muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi, ekiruyi kyange kireme okubuubuuka ng'omuliro ne kibookya ne wataba ayinza okukizikiza, olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.” “Laba, ndi mulabe wo, ayi ggwe abeera mu kiwonvu n'awali olwazi olw'omu lusenyi, bw'ayogera Mukama; mmwe aboogera nti, ‘Ani aliserengeta okututabaala? Oba ani aliyingira mu nnyumba zaffe?’ Era ndibabonereza ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama, era ndikuma omuliro mu kibira kyakyo, era gulyokya byonna ebikyetoolodde.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Serengeta eri ennyumba ya kabaka wa Yuda, era omugambe ebigambo bino, ‘Wulira ekigambo kya Mukama, ayi kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n'abaddu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino.’ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Musalenga emisango mu bwenkanya, muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi; so temulyazaamaanyanga, temugiriranga kyejo mugenyi newakubadde atalina kitaawe newakubadde nnamwandu, so temuyiwanga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino. Kubanga bwe muligondera ddala ekigambo ekyo, muliyingirira mu miryango egy'ennyumba eno, bassekabaka balituula ku nnamulondo ya Dawudi, nga batambulira mu magaali era nga beebagala embalaasi, ye n'abaddu be n'abantu be. Naye bwe mutalikkiriza kuwulira bigambo bino, nneerayirira nzekka, bw'ayogera Mukama, ng'ennyumba eno erifuuka matongo.” Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku by'ennyumba ya kabaka wa Yuda nti, “Ggwe olinga Gireyaadi gyendi, nga entikko ya Lebanooni, era naye sirirema kukufuula ddungu n'ekibuga omutali bantu. Era ndikutegekera abazikiriza, buli muntu ng'alina eby'okulwanyisa bye; era balitema emivule gyo egisinga obulungi, ne bagisuula mu muliro.” “ Kale amawanga mangi galiyita awali ekibuga kino, era buli muntu alibuuza munne nti, Lwaki Mukama akoze bwati ekibuga kino ekikulu?” Awo ne baddamu nti, “Kubanga baaleka endagaano ya Mukama Katonda waabwe, ne basinza bakatonda abalala ne babaweereza.” Temukaabira maziga oyo eyafa, so temumukungubagira; naye mumukaabire nnyo nnyini amaziga oyo agenda; kubanga takyadda nate so taliraba nsi y'ewaabwe. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ku bya Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya kitaawe okufuga era eyagenda okuva mu kifo kino nti, “Takyadda nate wano; naye mu kifo gye baamutwala nga musibe, eyo gy'alifiira, so taliddayo kulaba nsi eno nate.” “Zimusanze oyo azimba ennyumba ye olw'obutali butuukirivu, n'ebisenge bye olw'okulyazaamaanya; ng'akozesa munne obwereere, so tamuwa mpeera ye; ayogera nti, ‘Neezimbira ennyumba engazi n'ebisenge ebinene, ne ngiteekako amadirisa, ne ngitindiza embaawo ez'emivule, era n'esiigibwako langi.’ Olowooza nti oli kabaka kubanga ovuganya mu mivule egisinga egyabalala? Kitaawo teyalyanga n'anywanga, n'akolanga eby'obwenkanya n'eby'obutuukirivu? Kale yakolanga ebyo n'aba bulungi. Yasalanga omusango gw'omwavu n'eyeetaaga; kale n'aba bulungi. Okwo si kwe kwali okummanya? Bw'ayogera Mukama. Naye olina amaaso n'omutima nga bituukiriza kwegomba kwo kwokka, okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, n'okujooga, n'obukambwe.” Mukama kyava ayogera ku bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira nga boogera nti, Woowe, muganda wange! Oba nti Woowe, mwannyinaze! tebalimukungubagira nga boogera nti, Woowe, mukama wange! oba nti, Woowe, kabaka waffe! Aliziikibwa ng'endogoyi bw'eziikibwa, ewalulwa n'esuulibwa ebweru w'emiryango gya Yerusaalemi.” “Linnya ku Lebanooni okaabe, era oyimuse eddoboozi lyo mu Basani; okaabe ng'oyima ku Abalimu; kubanga baganzi bo bonna bazikiridde. N'ayogera naawe bwe wali ng'okyalaba omukisa; naye n'oyogera nti Siiwulire. Kubanga eyo ye yabanga empisa yo okuva mu buto bwo, obutagonderanga ddoboozi lyange. Embuyaga ze ziririisa abasumba bo bonna, ne baganzi bo balitwalibwa okusibibwa; kale tolirema kukwatibwa nsonyi n'oswala olw'obubi bwo bwonna. Ayi ggwe abeera ku Lebanooni, akola ekisu kyo ku mivule, ng'oliba wa kusaasirwa nnyo, obulumi bwe bulikukwata, obubalagaze ng'obw'omukazi alumwa okuzaala! “Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, newakubadde ggwe Koniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wali empeta ey'akabonero ku mukono gwange ogwa ddyo, naye ndikwegyako; ne nkugabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwo, ne mu mukono gw'abo b'otya, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, ne mu mukono gw'Abakaludaaya. Era ndikugobera, ggwe ne nnyoko akuzaala, mu nsi endala gye mutaazaalirwa; era mulifiira eyo. Emmeeme yammwe ery'e gomba okudda mu nsi eno, naye temulidda.” Omusajja ono Koniya luggyo olwatifu era olunyoomebwa, ekibya ekitalina akifaako? Lwaki ye n'ezzadde lye, bagoberwa era ne basuulibwa mu nsi gye batamanyi? Ayi ensi, ensi, ensi! wulira ekigambo kya Mukama. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Muwandiike omusajja ono nga atalina baana, era omusajja ataliraba mukisa mu biro bye; kubanga tewaliba muntu wa ku zzadde lye aliraba omukisa, era alituula ku nnamulondo ya Dawudi, oba alyeyongera nate okufuga mu Yuda.” “Zisanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga ez'omu ddundiro lyange!” Bw'ayogera Mukama. N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, ebikwata ku basumba abaliisa abantu bange nti, “Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama. Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala ne beeyongera. Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa, kale nga tebakyabatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba n'omu alibula,” bw'ayogera Mukama. “Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndirosa eri Dawudi Ettabi ettuukirivu, era alifuga nga ye kabaka, era alikola eby'amagezi, era alisala emisango n'obwenkanya n'obutuukirivu mu nsi. Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mu mirembe. Era lino lye linnya lye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.” “N'olwekyo laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, nga abasajja tebakyayogera nate nti, Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri; naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya ezzadde ery'ennyumba ya Isiraeri mu nsi ey'obukiikakkono ne mu nsi zonna gye yabagobera n'abalinnyisa n'abatwala; era balibeera mu nsi yaabwe bo.” Ebikwata ku bannabbi; omutima gwange gumenyese munda yange, amagumba gange gonna gakankana; nninga omutamiivu, era ng'omuntu awanguddwa omwenge; ku lwa Mukama n'olw'ebigambo bye ebitukuvu. Kubanga ensi ejjudde abenzi; olw'ekikolimo kino ensi ekungubaga, era n'amalundiro ag'omu ddungu gakaze. Entambula yaabwe mbi, n'amaanyi gaabwe si malungi. “Kubanga nnabbi era ne kabona boonoonefu; weewaawo, ndabye ebibi bye bakola mu nnyumba yange,” bw'ayogera Mukama. N'olwekyo amakubo gaabwe galiba gyebali ng'obukubo obw'obuseerezi mu kizikiza, omwo mwe balisindikibwa era mwebaligwira; kubanga ndibaleetako obubi mu mwaka mwe balibonererezebwa, bw'ayogera Mukama. Era ndabye obusirusiru ku bannabbi ab'e Samaliya; boogera mu linnya lya Baali ne bakyamya abantu bange Isiraeri. Era ndabye ekigambo eky'ekivve ne ku bannabbi ab'e Yerusaalemi; benda era batambulira mu by'obulimba, ne bawagira abo abakola ebibi, ne wataba akyuka okuleka obubi bwe, bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu, n'abali omwo nga abe Ggomola. N'olwekyo Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati ebikwata ku bannabbi nti, “Laba, ndibaliisa obusinso, era ndibanywesa amazzi ag'omususa, kubanga mu bannabbi ab'e Yerusaalemi obwonoonefu mwe buvudde okubuna ensi yonna.” Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Temuwulirizanga bigambo bya bannabbi ababagamba ebigambo; babayigiriza ebitaliiko kye bigasa, boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo, so tekuvudde mu kamwa ka Mukama. Bagamba abo abannyooma olutata nti, Mukama ayogedde nti Muliba n'emirembe; era neri buli muntu atambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwe bamugamba nti Tewaliba bubi obulibajjira.” Kubanga ani ku bo eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo, ategeere era awulire ekigambo kye? Ani eyali yeetegerezza ekigambo kyange n'akiwulira? Laba, kibuyaga wa Mukama! Ekiruyi kye kifulumye, kibuyaga w'akazimu, akuntira ku mutwe gw'ababi. Obusungu bwa Mukama tebulikka okutuusa lw'alimala okutuukiriza, n'okukomekkereza omutima gwe bye gumaliridde okukola, mu nnaku ez'oluvannyuma mulikitegeerera ddala. “Saatuma bannabbi abo, naye ne badduka mbiro ne bagenda n'obubaka, ssaayogera nabo, naye ne boogera mu linnya lyange. Naye singa baayimirira mu kuteesa kwange, kale bandirangiridde ebigambo byange eri abantu bange, era bandibakyusizza okuleka ekkubo lyabwe ebbi, n'ebikolwa byabwe ebibi.” “ Nze ndi Katonda ali okumpi, bw'ayogera Mukama, so siri Katonda ali ewala. Waliwo ayinza okwekweka mu bifo eby'ekyama ne simulaba? Sijjula ggulu n'ensi? Bw'ayogera Mukama. Mpulidde bannabbi bye boogedde, aboogera eby'obulimba mu linnya lyange, nga boogera nti, Ndoose, ndoose! Bulituusa wa obulimba mu mitima gya bannabbi aboogera eby'obulimba; era aboogera ebikyamu bye bagunja mu mutima gwabwe bo? Era balowooza okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw'ebirooto byabwe, buli muntu byabuulira munne, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali. Nnabbi aloota ekirooto alootoolorenga ekirooto, n'oyo afunye ekigambo kyange akyogerenga n'obwesigwa. Ebisusunku birina kye bifaananya n'eŋŋaano?” Bw'ayogera Mukama. Ekigambo kyange tekifaanana muliro? Bw'ayogera Mukama; era tekifaanana ne nnyondo eyasaayasa olwazi? “Kale, laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, ababba ebigambo byange buli muntu ku munne. Laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, abaddira ennimi zaabwe ne boogera nti, Mukama ayogera. Laba, ndi mulabe w'abo aboogera ebirooto eby'obulimba bwabwe n'olw'okwenyumiriza kwabwe okutaliimu, naye nga saabatuma so saabalagira; era tebaligasa bantu bano n'akatono, bw'ayogera Mukama.” “Singa omu ku bantu bano, oba nnabbi, oba kabona bwe balikubuuza nga boogera nti,‘ Omugugu gwa Mukama kye ki?’ Kale n'obagamba nti, ‘Ggwe mugugu eri Mukama era agenda kukusuula eri!’ bw'ayogera Mukama. Era ku bannabbi, oba kabona, oba omuntu omulala yenna alyogera nti, ‘Omugugu gwa Mukama,’ ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye. Bwe muti bwe muligamba buli muntu munne, na buli muntu muganda we nti, ‘Mukama azzeemu ki?’ Era nti, ‘Mukama ayogedde ki?’ Naye ‘Omugugu gwa Mukama,’ temuddangayo okugwogerako nate, kubanga buli muntu ekigambo kye ye kye kiriba omugugu gwe; kubanga mwannyoola ebigambo bya Katonda omulamu, ebya Mukama w'eggye, era Katonda waffe. Bw'oti bw'oba ogamba nnabbi nti, ‘Mukama akuzzeemu ki?’ Era nti, ‘Mukama ayogedde ki?’ Naye bwe mulyogera nti, ‘Omugugu gwa Mukama;’ Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga mwogera ekigambo ekyo nti, ‘Omugugu gwa Mukama,’ nange mbatumidde nga njogera nti, ‘Temwogeranga nti Omugugu gwa Mukama;’ n'olwekyo, laba, ndibasitula era n'embasulira ddala okuva mu maaso gange, mmwe era n'ekibuga kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe, era ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo n'ensonyi, n'okunyoomebwa ebitalivaawo ebitalyerabirwa.” Oluvannyuma lwa Nebukadduneeza kabaka we Babbulooni okutwala mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, n'abakungu ba Yuda wamu ne bafundi n'abaweesi, era ng'abatutte e Babbulooni, awo Mukama nanjolesa, era, laba, ebibbo bibiri eby'ettiini nga biteekeddwa mu maaso ga Yeekaalu ya Mukama. Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nnungi nnyo, ng'ettiini ezisooka okwengera, n'ekibbo eky'okubiri kyalimu ettiini mbi nnyo, zaali mbi nnyo nga teziyinza kuliika. Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Yeremiya olaba ki?” Ne njogera nti, “Ttiini; ettiini ennungi, nnungi nnyo; n'embi, mbi nnyo ezitayinza na kuliika, olw'obubi bwazo.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Ng'ettiini zino ennungi, bwe ziri bwe ntyo bwe nditwala nga balungi abo abawaŋŋangusiddwa okuva mu Yuda, be nnasindiikiriza okuva mu kifo kino okugenda mu nsi ey'Abakaludaaya. Kubanga ndibateekako amaaso gange olw'obulungi, era ndibakomyawo nate mu nsi eno, era ndibazimba so siribaabuluza; era ndibasimba so siribasimbula. Era ndibawa omutima ogw'okummanya nga ndi Mukama; era banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe, kubanga balikomawo gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.” “Naye bw'ati bw'ayogera Mukama nti, era ng'ettiini embi ezitayinza na kuliika, olw'obubi bwazo; bwe ntyo bwe ndikola Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be n'abafikkawo ku Yerusaalemi abaasigala mu nsi eno n'abo abali mu nsi y'e Misiri. ndibafuula eky'entiisa eri obwakabaka bwonna mu nsi, baliba ekivume n'olugero, n'ekikiino n'ekikolimo mu bifo byonna gye ndibagobera. Era ndisindika entalo, n'enjala ne kawumpuli mu bo okutuusa lwe balimalibwawo okuva ku nsi gye nnabawa bo ne bajjajjaabwe.” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ekikwata ku bantu bonna aba Yuda, mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda; ogwo gwe gwali omwaka ogwolubereberye ogwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni. Ekyo Yeremiya nnabbi kye yabuulira abantu bonna aba Yuda ne bonna abaali mu Yerusaalemi, ng'ayogera nti, “Okumala emyaka abiri mu esatu (23), okuva ku mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ogwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda n'okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kyanjijiranga ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; naye mmwe temwawulirizanga. Temwawulirizanga wadde okutega amatu gammwe okuwulira, newakubadde Mukama yayongera okubatumiranga abaddu be bonna bannabbi. Yayogeranga nti, ‘Mukomewo nno buli muntu ng'aleka ekkubo lye ebbi, n'ebikolwa byammwe ebibi, mulyoke mubeere mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuva edda n'okutuusa emirembe gyonna; so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, so temunsunguwazanga nga musinza ebyo byemukola n'emikono gyammwe, nange siribakola bubi.’ Era naye temwampuliranga, bw'ayogera Mukama; mulyoke munsomoze okunyiiga, olw'ebyo bye mukola n'emikono gyammwe, ne mwerumya mwekka.” “ Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga temuwulidde bigambo byange, laba, ndituma ne nzirira ebika byonna eby'obukiikakkono, bw'ayogera Mukama, era nditumira Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni omuddu wange, ne mbaleeta okutabaala ensi eno n'abo abali omwo n'amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'amatongo ag'olubeerera. Era nate ndibaggyako eddoboozi ery'okusanyuka, n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole, n'eddoboozi ly'omugole, tewaliba asa ku lubengo, wadde ekitangaala ky'ettabaaza. N'ensi eno yonna eriba matongo era nga tegasa; n'amawanga gano galiweereza kabaka w'e Babbulooni okumala emyaka nsanvu (70). Awo olulituuka emyaka ensanvu (70) bwe giriggwako, ne ndyoka mbonereza kabaka w'e Babbulooni n'eggwanga eryo, ensi y'Abakaludaaya olw'obubi bwabwe bw'ayogera Mukama, era ndifuula ensi etegasa ennaku zonna. Era ndireeta ku nsi eyo ebigambo byange byonna bye nnagyogerako, byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino Yeremiya bye yayogera eri amawanga gonna. Kubanga amawanga mangi ne bakabaka abakulu abalibafuula abaddu, era ndibasasula ng'ebikolwa byabwe bwe biri era ng'omulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli.” Kubanga bw'ati Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yaŋŋamba nti, “Toola ekikompe eky'omwenge ogw'ekiruyi kino mu mukono gwange, okinyweseeko amawanga gonna gye nkutuma. Kale balinywa ne batagatta ne balaluka olw'ekitala kye ndiweereza mu bo.” Awo ne ntoola ekikompe mu mukono gwa Mukama, ne nkinywesaako ab'amawanga gonna Mukama gye yantuma. Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda ne bakabaka baamu n'abakungu baamu, ne bakinywako, okubafuula amatongo, n'ekyewuunyo, n'okusoozebwanga, n'ekikolimo; nga bwe kiri ne leero. Falaawo kabaka w'e Misiri n'abaddu be n'abakungu be n'abantu be bonna; n'abagwira bonna abali mu bo, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ya Uzi, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ey'Abafirisuuti, ne Asukulooni ne Gaaza ne Ekuloni n'abafisseewo mu Asudodi; Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni; ne bakabaka bonna ab'e Ttuulo ne bakabaka bonna ab'e Sidoni ne bakabaka b'ekizinga ekiri emitala w'ennyanja; Dedani ne Tema ne Buzi ne bonna abasala ku nviiri zaabwe; ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu ne bakabaka bonna ab'abantu abenjawulo ababeera mu ddungu; ne bakabaka bonna ab'e Zimuli, ne bakabaka bonna aba Eramu, ne bakabaka bonna aba Abameedi; ne bakabaka bonna ab'obukkiikkakkono, ab'ewala n'ab'okumpi, buli muntu ne munne; n'ensi zonna eza bakabaka bwe benkana eziri ku nsi; bonna balikinywesebwako. Kabaka w'e Sesaki ye alisembayo okukinywako. “Era olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Munywe mutamiire museseme mugwe so temuyimuka nate olw'ekitala kye ndiweereza mu mmwe.’ ” Awo olulituuka bwe baligaana okutoola ekikompe mu mukono gwo, okunywa, kale olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Muteekwa okunywa! Kubanga, laba, ntandika okuleeta obubi ku kibuga ekituumiddwa erinnya lyange, era oligenda nga tobonerezeddwa? Temuliwona kubonerezebwa, kubanga ndiyita ekitala okujja ku abo bonna abatuula ku nsi, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kale gwe obagambanga ebigambo ebyo byonna, nti, Mukama aliwuluguma ng'ayima waggulu, alireeta eddoboozi lye ng'ayima mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera; aliwulugumira n'amaanyi ku kisibo kye; era alyogerera waggulu ng'abo abasamba ezabbibu, abo bonna abatuula ku nsi. Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina omusango gw'avunaana amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; era ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, akabi kalifuluma okuva mu ggwanga erimu okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa okuva ku njegoyego ez'enkomerero z'ensi. N'abo Mukama b'alitta baliva ku nkomerero y'ensi balituuka ku nkomerero yaayo, tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g'ensi. “Muwowoggane, mmwe abasumba, mukaabe; mwekulukuunye mu vvu, mmwe abakulu ab'omu kisibo; kubanga ennaku ez'okuttibwa kwammwe zituukidde ddala, nange ndibamenyaamenya, nammwe muligwa ng'ekibya ekisanyusa. N'abasumba tebaliba na kkubo lya kuddukiramu, newakubadde abakulu ab'omu kisibo tebaliba na kkubo lyakuwoneramu. Muwulire eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'abasumba n'okuwowoggana kw'abakulu ab'omu kisibo! kubanga Mukama azisizza eddundiro lyabwe. N'ebisibo ebyabangamu emirembe, birisasanyizibwa olw'ekiruyi kya Mukama. Ng'empologoma evudde mu bwekwekero bwayo, kubanga ensi yaabwe efuuse etagasa olw'ekitala ky'omujoozi, n'olw'ekiruyi kya Mukama.” Mu ntandikwa y'obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, ekigambo kino ne kijja okuva eri Mukama, “ Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Yimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, oyogere n'ebibuga byonna ebya Yuda, abajja okusinziza mu nnyumba ya Mukama, ebigambo byonna bye nkulagira okubagamba; tolekaayo na kimu. Mpozzi baliwulira ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nejjuse obubi bwe nteesa okubakola olw'obubi obw'ebikolwa byabwe. Era obagambanga nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutampulirize okutambuliranga mu mateeka gange ge ntadde mu maaso gammwe, n'okuwulirizanga ebigambo by'abaddu bange bannabbi be mbatumira, awatali kwosa, naye mmwe ne mutawuliriza; kale ndifuula ennyumba eno nga bwe nnakola Siiro, era ndifuula ekibuga kino ekikolimo mu mawanga gonna ag'omu nsi.’ ” Awo bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bawulira nga Yeremiya ng'ayogerera ebigambo ebyo mu nnyumba ya Mukama. Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera byonna Mukama bye yali amulagidde okugamba abantu bonna, awo bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bamukwata nga boogera nti, “Tooleme kufa. Kiki ekikwogezza mu linnya lya Mukama n'oyogera nti, ‘Ennyumba eno eriba nga Siiro n'ekibuga kino kirifuuka matongo nga tewali muntu akibeeramu?’ ” Abantu bonna ne bakuŋŋaanira awali Yeremiya mu nnyumba ya Mukama. Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebyo, ne bambuka nga bava mu nnyumba ya kabaka, ne bajja mu nnyumba ya Mukama; ne batuula mu ntebe zaabwe awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama. Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti, “Omusajja ono asaanidde okufa; kubanga ayogedde ku kibuga kino, nga bwe muwulidde n'amatu gammwe mmwe.” Awo Yeremiya n'agamba abakungu bonna n'abantu bonna nti, “Mukama ye yantuma okwogera ku nnyumba eno ne ku kibuga kino ebigambo ebyo byonna bye muwulidde. Kale nno mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, mugondere eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe; kale Mukama alikyusa obubi bwonna bw'abalangiriddeko. Naye nze, laba, ndi mu mikono gwammwe, munkole nga bwe musiima era bwe kiri ekirungi era ekituufu gye muli. Kyokka mutegeerere ddala nga bwe munanzita muneereetako omusaayi ogutaliiko musango, era ne ku kibuga kino ne ku abo abakibeeramu, kubanga mazima Mukama ye antumye gye muli okwogera ebigambo bino byonna mu matu gammwe.” Awo abakungu n'abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaanidde kufa; kubanga ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.” Awo abamu ku bakadde b'ensi ne basituka ne bagamba ekibiina kyonna eky'abantu nti, “Mikaaya Omumolasi yayogerera mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda; n'agamba abantu bonna aba Yuda ng'ayogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, olusozi Sayuuni lulikabalwa ng'ennimiro ne Yerusaalemi kirifuuka bifunvu, n'olusozi okuli ennyumba eno luliba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.’ Keezeekiya kabaka wa Yuda ne Yuda yenna bamutta? Teyatya Mukama ne yeegayirira ekisa kya Mukama, era Mukama teyejjusa obubi bwe yali abalangiriddeko? Naye ffe tugenda okwereetera akabi akanene.” Era waaliwo n'omusajja omulala, Uliya mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyasuyalimu; eyayogerera mu linnya lya Mukama, n'oyo yayogera ku kibuga kino ne ku nsi eno ng'ebigambo byonna ebya Yeremiya bwe bibadde. Awo Yekoyakimu kabaka n'abasajja be bonna ab'amaanyi n'abakungu bonna bwe baawulira ebigambo bya Uliya, kabaka n'ayagala okumutta; naye Uliya bwe yakiwulira, n'atya n'addukira e Misiri. Yekoyakimu kabaka n'atuma Erunasani mutabani wa Akubooli, n'abantu abalala, e Misiri, ne bakimayo Uliya mu Misiri, ne bamuleeta eri Yekoyakimu kabaka; n'amutta n'ekitala, n'asuula omulambo gwe mu malaalo g'abakopi. Naye omukono gwa Akikamu mutabani wa Safani, ne guba wamu ne Yeremiya baleme okumuwaayo mu mikono gy'abantu okumutta. Ku ntandikwa y'obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama nga kyogera nti, Bw'ati Mukama bw'aŋŋamba nti, “Weekolere ebisiba n'emiti egy'ekikoligo obiteeke mu bulago bwo; oweereze ekigambo eri kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni, ng'oyita mu babaka baabwe abajja e Yerusaalemi okulaba Zeddekiya kabaka wa Yuda. Balagire ebigambo bino eby'okutwalira bakama baabwe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Mugambe bakama bammwe nti, Nze olw'obuyinza bwange obungi, n'omukono ogugoloddwa, nnakola ensi, n'abantu, n'ensolo ebiri ku nsi; era ngiwa oyo gwe nsiima. Era kaakano ensi zino zonna nziwadde Kabaka Nebukadduneeza, kabaka w'e Babbulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo zonna ez'omu nsiko okumuweerezanga. N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we, okutuusa ekiseera kye nnategekera eggwanga lye lwe kiriggwaako, olwo nalyo ne liryoka liweereza amawanga mangi, aga bakabaka abakulu ne balyoka naye bamufuula omuddu.” “Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babbulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe. Naye mmwe temuwulirizanga bannabbi bammwe, newakubadde abafumu bammwe, newakubadde abaloosi, abalaguzi, oba abasamize bammwe ababagamba nti, ‘Temuliweereza kabaka w'e Babbulooni.’ Kubanga bya bulimba bye babalagula, n'ekirivaamu mulitwalibwa wala n'ensi yammwe, ndigibagobamu, era mulizikirira. Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.” Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti, “Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu. Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde ku ggwanga lyonna eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babbulooni? So temuwulirizanga bigambo bya bannabbi aboogera nammwe nti, ‘Temuliweereza kabaka w'e Babbulooni,’ kubanga babalagula kya bulimba. Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagula bya bulimba mu linnya lyange; n'ekirivaamu nja kugibagobamu era mulizikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula.” Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Temuwulirizanga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti, ‘Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babbulooni,’ kubanga babalagula kya bulimba. Temubawulirizanga; naye muweereze kabaka w'e Babbulooni, mulyoke mubeere abalamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo? Naye bwe baba nga bannabbi ddala, era n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okutwalibwa e Babbulooni. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, ebikwata ku mpagi, ne tanka, n'ebikondo by'ebinaabiro, n'eby'entebe, n'eby'ebintu ebirala ebyasigala mu kibuga kino, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni by'ataatwala bwe yatwala mu buwaŋŋanguse Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babbulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi; weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, ku bikwata ku bintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti, biritwalibwa e Babbulooni, era biribeera eyo okutuusa ku lunaku lwe ndibajjira, bw'ayogera Mukama; kale ne ndyoka mbiggyayo ne mbikomyawo mu kifo kino.” Mu mwaka ogwo gwennyini, ku ntandikwa y'obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'okutaano ogw'omwaka ogwokuna, Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayogera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nga agamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Mmenye ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni. Mu bbanga lya myaka ebiri, ndikomyawo nate mu kifo kino ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babbulooni. Ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abantu bonna abawaŋŋanguka okuva mu Yuda abaagenda e Babbulooni, bw'ayogera Mukama, kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni.” Awo nnabbi Yeremiya n'ayogera ne nnabbi Kananiya, mu maaso ga bakabona, n'abantu bonna abaali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, nnabbi Yeremiya n'ayogera nti, “Amiina! Mukama akole bw'atyo; Mukama atuukirize ebigambo byo byonna by'olagudde okukomyawo mu kifo kino okuva e Babbulooni, ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'abo bonna abatwalibwa mu buwaŋŋanguse. Era naye wulira nno ekigambo kino kye njogera mu matu go ne mu matu g'abantu bano bonna, Bannabbi abansooka nze era n'abaakusooka ggwe edda baalagulanga, entalo, enjala ne kawumpuli eby'okujjira ensi nnyingi, n'amatwale ga bakabaka ab'amaanyi. Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale kirimanyibwa nga ddala Mukama, yaatumye nnabbi oyo.” Awo Kananiya nnabbi n'aggya omuti gwe kikoligo mu nsingo ya nnabbi Yeremiya n'agumenya. Awo Kananiya n'ayogera abantu bonna nga weebali nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Era bwe ntyo bwe ndimenya n'ekikoligo kya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako.” Awo nnabbi Yeremiya ne yeddirayo. Ekiseera bw'ekyayitawo nga nnabbi Kananiya amaze okumenya emiti gy'ekikoligo okuva mu nsingo ya nnabbi Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya, “Genda obuulire Kananiya nti,‘ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo eky'emiti, naye olikola ekikoligo eky'ebyuma okudda mu kifo kyakyo. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Ntadde ekikoligo eky'ebyuma mu nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni; era balimuweereza, era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweereza.’ ” Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba nnabbi Kananiya nti, “Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye oleetera abantu bano okwesiga eby'obulimba. N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, nja kukuggya mu nsi, mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.’ ” Mu mwaka ogwo gw'ennyini, mu mwezi ogw'omusanvu nnabbi Kananiya naafa. Era bino bye bigambo eby'omu bbaluwa Yeremiya nnabbi gye yaweereza ng'asinziira e Yerusaalemi eri abakadde, babo abali mu buwaŋŋanguse, n'eri bakabona, ne bannabbi, n'abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi okugenda e Babbulooni. Kino kyaliwo oluvannyuma lwa kabaka Yekoniya, ne nnamasole n'abalaawe n'abakungu ba Yuda ne Yerusaalemi ne bafundi n'abaweesi okuggyibwa mu Yerusaalemi. Ebbaluwa n'agiwa Erasa mutabani wa Safani ne Gemaliya mutabani wa Kirukiya, abo Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babbulooni eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni. Yali egamba bweti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri, eri abo bonna abawaŋŋangusibwa be n'asindika mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi okugenda e Babbulooni nti, Muzimbenga ennyumba mutuulenga omwo; musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu; muwasenga abakazi, muzaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; era muwasizenga batabani bammwe abakazi, era ne bawala bammwe mubafumbizenga, bazaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; mweyongere obungi, muleme kukendeera. Mwagalizenga ekibuga emirembe, gye nnabasindika mu buwaŋŋanguse, era mukisabirenga eri Mukama, kubanga olw'emirembe gyakyo nammwe muliba n'emirembe. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Bannabbi bammwe abali wakati mu mmwe n'abasamize bammwe balemenga okubalimba, so temuwulirizanga birooto byabwe bye baloota. Kubanga balagulira mu linnya lyange eby'obulimba, so sibatumanga,” bw'ayogera Mukama. “Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Emyaka nsanvu (70) gye nawa Babbulooni bwe giriggwaako, ndibakyalira, era ndituukiriza ekisuubizo kyange, ne mbakomyawo mu kifo kino. Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa eby'omu maaso ne suubi. Olwo mulinkoowoola, nange ne nzijja; mulinsaba, nange ndibawulira. Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna. Nange mulindaba, bw'ayogera Mukama, era ndizaawo emikisa gyammwe, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera, era ndibakomyawo mu nsi mwe nnabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse.” “Kubanga mwogedde nti,‘ Mukama atuwadde bannabbi mu Babbulooni.’ Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku kabaka atuula ku nnamulondo ya Dawudi, era n'ebikwata ku bantu bonna abali mu kibuga kino, baganda bammwe, abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse, ‘bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, ndisindika ku bo ekitala, n'enjala ne kawumpuli, era ndibafuula ng'ettiini ezitaliiko kye zigasa ezitaliika kubanga ziyinze obubi. Era ndibayigganya n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, era ndibawaayo okuyuuguumizibwa mu nsi zonna eza bakabaka eziri ku nsi, era okuba ekikolimo, eky'entiisa, n'okusoozebwanga n'ekivume mu mawanga gonna gye nnabagobera, kubanga tebawulirizza bigambo byange, bye n'atuma abaddu bange bannabbi, be nnabaweerezanga obutayosa; naye ne mutakkiriza kuwulira, bw'ayogera Mukama.’ Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abaagenda mu buwaŋŋanguse, be nnasindika e Babbulooni okuva e Yerusaalemi.” Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri ebikwata ku Akabu mutabani wa Kolaya n'ebya Zeddekiya mutabani wa Maaseya abalagula eby'obulimba mu linnya lyange nti, Laba, ndibagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni; era alibatta nga mulaba; era ku lwabwe ekikolimo kino kinaakozesebwanga abo bonna abali mu buwaŋŋanguse abaava mu Yuda abali e Babbulooni nti, “ Mukama akufuule nga Zeddekiya ne Akabu kabaka w'e Babbulooni be yayokya omuliro,” kubanga bakoze eby'obusirusiru mu Isiraeri; benze ku bakazi ba bannaabwe, era boogedde ebigambo eby'obulimba mu linnya lyange bye sibalagiranga; nze mwene nze mmanyi, era ndi mujulirwa gyebali, bw'ayogera Mukama. Eri Semaaya Omunekeramu on'omugamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Kubanga oweerezza ebbaluwa mu linnya lyo ggwe, eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi n'eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona n'eri bakabona bonna ng'oyogera nti, Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada kabona, obeere omukulu mu nnyumba ya Mukama. Mulimu gwo okulaba nga buli mulalu eyeefuula nnabbi, omuteeka mu nvuba ne mu masamba. Kale nno kiki ekikulobedde okunenya Yeremiya ow'e Yanasosi eyeefuula nnabbi gye muli?” Kubanga yatutumira e Babbulooni ng'ayogera nti, “Obuwaŋŋanguse bwa kulwawo; muzimbenga ennyumba, mutuulenga omwo; era musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu.” Awo Zeffaniya kabona n'asomera Yeremiya nnabbi ebbaluwa eno. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, “Tumira abo bonna abali mu buwaŋŋanguse e Babbulooni ng'oyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bya Semaaya Omunekeramu nti, Kubanga Semaaya abalagudde, so nga nze simutumanga, era n'abaleetera okwesiga eby'obulimba. Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndibonereza Semaaya Omunekeramu n'ezzadde lye; taliba na musajja aliba omulamu mu bo aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, bw'ayogera Mukama, kubanga ayogedde eby'obujeemu eri Mukama.’ ” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Wandiika mu kitabo ebigambo byonna bye nkubuulidde. Kubanga ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndizaawo emikisa gy'abantu bange Isiraeri ne Yuda, era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era eriddamu okuba eyaabwe.” Era bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isiraeri, ne Yuda nti, “Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, tuwulidde eddoboozi ery'okukankana, n'ery'okutya, sso si lya mirembe. Mubuuze nno mulabe; omusajja ayinza okulumwa okuzaala? Lwaki kale ndaba buli musajja emikono gye nga gikutte mu mbinabina, ng'omukazi alumwa okuzaala? Lwaki amaaso gonna gaperuse? Woowe! kubanga olunaku olwo olukulu lujja so tewali lulwenkana; kiriba kiseera Yakobo mw'alirabira ennaku; naye alirokoka mu zo.” “Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndimenya ekikoligo ekiri mu nsingo yaabwe, era ndikutula enjegere ezibasibye; era bannamawanga nga tebakyabafuula baddu nate.” Naye baliweereza Mukama Katonda waabwe, ne Dawudi kabaka, gwe ndibayimusiriza. “Kale totya, ayi Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; so tokeŋŋentererwa, ayi Isiraeri; kubanga, laba, ndikulokola nga nsinziira wala, n'ezzadde lyo okuva mu nsi gye mwasibirwa; awo Yakobo alikomawo, era alitereera, alibeera mirembe, so tewaliba alimutiisa. Kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukulokola; kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza, naye ggwe sirikumalirawo ddala, naye ndikubuulirira mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.” “Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ebbwa lyo teriwonyezeka, n'ekiwundu kyo si kya kitalo. Tewali wa kukuwolereza, tewali ddagala ery'ekiwundu kyo, togenda kuwonyezebwa. Baganzi bo bonna bakwerabidde; tebakyakufaako; kubanga nkufumise ekiwundu eky'omulabe, mbabonerezza n'obukambwe; kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, ne ebibi byo byeyongedde. Okaabira ki olw'ekiwundu kyo? Obulumi bwo tebuwonyezeka, kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, ne bibi byo byeyongedde, kyenvudde nkukola ebyo. Abo bonna abakulya kyebaliva baliibwa; n'abalabe bo bonna buli omu ku bo baligenda mu busibe; n'abo abakunyaga, baliba munyago, n'abo bonna abakuyigga, ndibagabula okuba omuyiggo. Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti, ‘Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atakyafaako!’ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndizzawo obulungi bw'eweema za Yakobo, era ndisaasira ennyumba ze, n'ekibuga kirizimbibwa ku kifunvu kyakyo, era n'olubiri lulizzibwa we lwali. Okuva mu bo muliva ennyimba ez'okwebaza, n'amaloboozi g'abo abasanyuka. Ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebalitoowazibwa. Era n'abaana baabwe baliba nga bwe baali olubereberye, n'ekibiina kyabwe kirinywezebwa mu maaso gange, era ndibonereza bonna abalibajooga. N'omulangira waabwe aliba munnaabwe bo, n'oyo alibafuga, aliva mu bo wakati; era ndimusembeza, era alijja we ndi, kubanga ani eyali ayaŋŋaanze okunsemberera? Bw'ayogera Mukama. Nammwe munaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe.” Laba, kibuyaga wa Mukama, kye kiruyi kye, afulumye, alikuntira ku mutwe gy'ababi. Obusungu bwa Mukama omukambwe tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza n'okukomekkereza omutima ebigendererwa by'omutima gwe. Mu nnaku ez'oluvannyuma mwe mulikitegeera bulungi. “Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, ndiba Katonda w'enda zonna eza Isiraeri, nabo baliba bantu bange.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu abaawona ekitala baalaba ekisa mu ddungu; Isiraeri, bwe yeegomba ekiwummulo. Mukama yandabikira dda ng'ayogera nti, Weewaawo, Isiraeri nkwagadde n'okwagala okutaliggwaawo; kyenvudde nnyongera okukukwatirwa ekisa. Ndikuzimba nate, naawe olizimbibwa, ggwe omuwala wa Isiraeri, olyambalira nate ebitaasa byo, olifuluma nga muzina era nga musanyuka. Olisimba nate ensuku ez'emizabbibu ku nsozi ez'e Samaliya; abasimbi balisimba ne balya ebibala byamu. Kubanga olunaku lulituuka abo abakuumira ku nsozi za Efulayimu lwe balikoowoola nti, ‘Musituke, twambuke e Sayuuni eri Mukama Katonda waffe.’ ” Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Muyimbe n'essanyu olwa Yakobo, mwogerere waggulu olw'omukulu w'amawanga, mulange, mutendereze, mwogere nti, ‘Mukama alokodde abantu be, aba Isiraeri abawonyeewo.’ Laba, ndibaggya mu nsi ey'obukiikakkono, ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y'ensi, era awamu nabo omuzibe w'amaaso, n'awenyera, omukazi ali olubuto, n'oyo alumwa okuzaala, balikomawo wano ekibiina kinene. Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira; ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira, kubanga ndi kitaawe wa Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange. “Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe amawanga, mukibuulirire ku bizinga ebiri ewala; mwogere nti, ‘Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya, era anaamukuumanga ng'omusumba bw'akuuma ekisibo kye.’ Kubanga Mukama yeyimiridde Yakobo, era amununudde okumuggya mu mukono gw'oyo amusinga amaanyi. Kale balijja ne bayimbira waggulu ku ntikko ya Sayuuni, era balisanyukira obulungi bwa Mukama, era ne ŋŋaano, n'omwenge, n'amafuta, n'abaana b'embuzi n'ab'ente; n'emmeeme yaabwe eriba ng'olusuku olufukirirwa amazzi, era tebalibaako buyinike nate n'akatono. Awo abawala balisanyuka ne bazina, abalenzi n'abasajja abakadde nabo balisanyuka, kubanga okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, era ndibakubagiza ne mbasanyusa okuva mu buyinike bwabwe. Era ndinyiya emmeeme za bakabona n'amasavu, n'abantu bange balikkutta n'obulungi bwange, bw'ayogera Mukama.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n'okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tebakyaliwo.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Zibiikiriza eddoboozi lyo lireme okukaaba, n'amaaso go galeme okuleeta amaziga; kubanga omulimu gwo guliweebwa empeera, bw'ayogera Mukama; era balidda nate okuva mu nsi y'omulabe. Waliwo essuubi mu biseera byo ebijja, bw'ayogera Mukama, n'abaana bo balikomawo mu nsi yaabwe bo. Mazima mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako bw'ati nti, ‘Onkangavvudde ne nkangavvulwa ng'ennyana etemanyidde kikoligo; nkomyawo nange nnazzibwawo, kubanga ggwe Mukama Katonda wange. Mazima bwe nnamala okukyusibwa ne nneenenya; era bwe nnamala okuyigirizibwa ne nkuba ku kisambi kyange, n'akwatibwa ensonyi, weewaawo, n'aswala kubanga n'asitula ekivume eky'omu buto bwange.’ Efulayimu mwana wange omwagalwa? Oli mwana ansanyusa? Kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini. N'olwekyo omwoyo gwange kye guvudde gunnuma ku lulwe; Ddala ddala ndimukwatirwa ekisa, bw'ayogera Mukama. “Weesimbire obubonero ku kkubo, weekolere obulambe ku luguudo, lowooza ku kkubo eddene, oluguudo lwe waayitamu okugenda, komawo, ayi omuwala wa Isiraeri, komawo mu bibuga byo bino. Olituusa wa okutambula ng'odda eno n'eri, ayi ggwe omuwala ateesigibwa? Kubanga Mukama atonze ekintu ekiggya mu nsi; omukazi okukuuma omusajja.” Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, “Oliboolyawo ne boogera nate ekigambo kino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo, bwe ndikomyawo emikisa gyabwe nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, ggwe olusozi olw'obutukuvu.’ Awo Yuda n'ebibuga byayo byonna balituula wamu; abalimi n'abo abatambulatambula n'ebisibo byabwe. Kubanga ndikusa emmeeme ekooye, na buli mmeeme eriko obuyinike ndigijjuza.” Awo ne ndyoka nzuukuka ne ndaba; otulo twange ne tumpoomera. “ Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndisiga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda n'ensigo ey'abantu n'ensigo ey'ensolo. Awo olulituuka nga bwe nnabalabiriranga okusimbula n'okumenyaamenya, okusuula, okuzikiriza era n'okuleeta obubi; bwe ntyo bwe ndibalabirira mu okuzimba n'okusimba, bw'ayogera Mukama. Mu nnaku ezo nga tebakyayogera nate nti, ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyunyuntula, n'amannyo g'abaana ganyenyeera.’ Naye buli muntu alifa olw'obutali butuukirivu bwe ye; buli muntu alya ezabbibu ezinyunyuntula, amannyo ge ge galinyenyeera. “Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda, si ng'endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri; endagaano yange eyo ne bagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw'ayogera Mukama. Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era ndigawandiika mu mitima gyabwe; nange n'abanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange, nga olwo omuntu takyayigiriza munne, na buli muntu muganda we nga boogera nti, ‘Manya Mukama,’ kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama, kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti, “Singa ebiragiro bino eby'enkalakalira biva mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, kale n'ezzadde lya Isiraeri lirirekerawo okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Eggulu eriri waggulu oba nga liyinzika okugerebwa, n'emisingi gy'ensi oba nga giyinzika okukeberwa wansi, kale nange ndisuula ezzadde lyonna erya Isiraeri olwa byonna bye bakola, bw'ayogera Mukama.” “Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekibuga lwe kirizimbirwa Mukama, okuva ku munaala gwa Kananeri okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda. Era omugwa ogugera gulireegebwa butereevu okuva eyo okutuuka ku lusozi Galebu, era gulikyuka ne gutuuka ku Gowa. N'ekiwonvu kyonna, eky'emirambo n'ekyevvu, n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni, n'okutuuka ku nsonda ey'omulyango ogw'embalaasi okwolekera ebuvanjuba, kiriba kitukuvu eri Mukama. Ekibuga ekyo tekirisimbulwa nate so tekirisuulibwa nate emirembe gyonna.” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama mu mwaka ogw'ekkumi (10) nga Zeddekiya ye kabaka wa Yuda, era gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) nga Nebukadduneeza ye kabaka we Babbulooni. Awo mu kiseera ekyo eggye lya kabaka w'e Babbulooni lyali lizingizizza Yerusaalemi; ne Yeremiya nnabbi yali asibiddwa mu luggya olw'abambowa, olwali mu nnyumba ya kabaka wa Yuda. Kubanga Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibye ng'ayogera nti, “Lwaki olagula n'oyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikiwamba; ne Zeddekiya kabaka wa Yuda taliwona mu mukono gw'Abakaludaaya, naye aliweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, era alyogera naye akamwa n'akamwa, era alimulaba maaso ku maaso; era alitwala Zeddekiya e Babbulooni, era alibeera eyo okutuusa lwe ndimujjukira, bw'ayogera Mukama; newakubadde nga mulwana n'Abakaludaaya, naye temujja kuwangula.’ ” Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Ekigambo kya Mukama kyajja gye ndi nga kyogera nti, Laba, Kanameri mutabani wa Sallumu kojja wo alijja gy'oli ng'ayogera nti, ‘Weegulire ennimiro yange eri mu Anasosi, kubanga okuginunula kukwo.’ Awo Kanameri omwana wa kojja wange n'ajja gye ndi mu luggya olw'abambowa, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, n'aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, gula ennimiro yange eri mu Anasosi ekiri mu nsi ya Benyamini, kubanga obusika bubwo, n'okuginunula kukwo; gye gulire ku lulwo.’ Kale ne ndyoka ntegeera ng'ekyo kye kigambo kya Mukama. Ne ngula ennimiro eyali mu Anasosi okuva ku Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu (17). Ne nteeka omukono ku ndagaano, ne ngissako akabonero, ne mpita abajulizi ne mmupimira effeeza mu minzaani. Awo ne nkwata endagaano y'obuguzi nga nsibe, ng'etteeka n'empisa bwe biri, ne ndala nga si nsibe, ne mpaayo endagaano y'obuguzi eri Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, Kanameri omwana wa kojja wange nga waali, n'abajjulizi nga weebali abaawandiika amannya gaabwe ku ndagaano y'okugula, mu maaso g'Abayudaaya bonna abaatuulanga mu luggya olw'abambowa. Ne nkuutira Baluki mu maaso gaabwe nga njogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Twala endagaano zino, endagaano ey'obuguzi ensibe, n'eteri nsibe, obitereke mu kintu eky'ebbumba; zisobole okukuumibwa ebbanga eggwanvu. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Oliboolyawo ennyumba n'ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu ne biddamu nate okugulibwa mu nsi eno.’ ” Awo nga mmaze okuwaayo endagaano ey'obuguzi, eri Baluki mutabani wa Neriya, ne nsaba Mukama nga njogera nti, Ayi Mukama Katonda! laba, watonda eggulu n'ensi n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogwagololwa; tewali kigambo kikulema, olaga abantu enkumi n'enkumi eby'ekisa, n'osasula obutali butuukirivu bwa bakitaabwe mu kifuba ky'abaana baabwe abaddawo. Ayi Katonda omukulu era ow'amaanyi, Mukama w'eggye lye linnya lye, omukulu mu kuteesa era ow'amaanyi mu bikolwa; amaaso go gatunuulira amakubo gonna ag'abaana b'abantu; okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali era ng'ebibala by'ebikolwa bye bwe biri. Walaga obubonero n'eby'amagero mu nsi y'e Misiri, n'okutuusa leero mu Isiraeri era ne mu bantu abalala; weekolera erinnya nga leero. wa ggya abantu bo Isiraeri mu nsi y'e Misiri n'ebyewuunyo n'eby'amagero n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'entiisa ennyingi; n'obawa ensi eno gye walayirira okuwa bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bagiyingira ne bagitwala. Naye ne batagondera ddoboozi lyo, so tebaatambulira mu mateeka go; tebaakolanga kigambo kyonna ku ebyo byonna bye wabalagira okukola. N'olwekyo ky'ovudde obaleetako obubi buno bwonna. Laba entuumo, zituuse mu ekibuga okukiwamba; era olw'ekitala n'enjala ne kawumpuli, ekibuga kiweereddwayo mu mikono gy'Abakaladaaya abakirwanyisa; era, laba ebyo bye wayogera bituukiridde; era, laba naawe obirabye. Era oŋŋambye, ayi Mukama Katonda, nti, “Weegulire ennimiro n'ebintu, era oyite abajulizi; newakubadde nga ekibuga kiweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.” Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, “Laba, nze ndi Mukama Katonda w'abo bonna abalina omubiri; waliwo ekigambo kyonna ekinnema?” Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mikono gy'Abakaludaaya ne mu mikono gya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era alikiwamba. Abakaludaaya abalwanyisa ekibuga kino balijja balikoleeza omuliro ne bakyokya, era balyokya n'ennyumba, abantu gye baayoterezanga Baali obubaane ku busolya bwazo, era n'ebiweebwayo eby'okunnywa gy'ebyafuukirwanga eri ba katonda abalala, nga bansomooza okunsunguwaza. Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda tebalina kye bakoze wabula ebibi ebyereere mu maaso gange okuva mu buto bwabwe; era abaana ba Isiraeri tebalina kye bakoze wabula okunsomooza nga bansunguwaza n'omulimu ogw'engalo zaabwe bw'ayogera Mukama. Kubanga kibuga kino kyasikuula obusungu bwange n'ekiruyi kyange okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa, okutuusa ne leero; bw'entyo ndikiggya mu maaso gange, olw'obubi bwonna abaana ba Isiraeri, n'abaana ba Yuda bwe baakola okunsomooza okunsunguwaza, awamu ne bakabaka baabwe, abakungu baabwe, bakabona baabwe ne bannabbi baabwe, n'abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi. Era bankubye enkoona, ne bankweka amaaso; newakubadde nga nnabayigiriza, obutasalako, naye tebaawuliriza basobole okuyiga. Naye ne bateeka emizizo gyabwe mu nnyumba, eyitibwa erinnya lyange okugyonoona. Era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali ebiri mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, balyoke bayisenga batabani baabwe n'abawala baabwe mu muliro, eri Moleki; kye sibalagiranga, so tekijjanga mu mwoyo gwange, bakole omuzizo ogwo; okwonoonyesa abantu ba Yuda. “Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, ebikwata ku kibuga kino kye mwogerako nti, ‘Kiweereddwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, olw'ekitala, n'enjala ne kawumpuli;’ naye laba, nze ndibakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera mu busungu bwange ne mu kiruyi kyange ne mu bukambwe obungi; era ndibakomyawo mu kifo kino, era ndibatuuza mu mirembe, era banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe. Ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu, bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo. Ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, nga siriddayo kukyuka kuleka kubakola bulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako. Weewaawo, ndisanyukira okubakolanga obulungi, era sirirema kubasimba mu nsi eno n'omutima gwange gwonna n'emmeeme yange yonna.” “Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Nga bwe ndeese obubi buno obunene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibaleetako obulungi bwonna bwe nnabasuubizza. Kale ennimiro zirigulwa mu nsi eno gye mwogerako nti Ezise, temuli muntu newakubadde ensolo; era eweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya. Abantu baligula ennimiro n'ebintu, endagaano ne zinassibwangako emikono, ne ziteekebwako n'akabonero ne bayita n'abajulizi mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsenyi ne mu bibuga eby'obukkiikkaddyo; kubanga ndizzawo emikisa gyabwe, bw'ayogera Mukama.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya omulundi ogwokubiri, bwe yali ng'akyasibiddwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama eyatonda ensi, Mukama eyagibumba, n'aginyweza, Mukama lye linnya lye nti; Mpita, nange nnaakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebikisiddwa by'otomanyi.” Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, nti, ennyumba ez'omu kibuga kino, n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda, ziryabizibwa ne zifuuka olw'okuzingizibwa n'okulumbibwa. Abakaludaaya bajja okulwana era n'okubajjuza emirambo gy'abantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, kubanga ekibuga kino nkikwese amaaso gange, olw'obubi bwabwe bwonna bwe bakoze. Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira obungi bwenkulakulana ne mirembe. Era ndizzaawo emikisa gya Yuda ne n'emikisa gya Isiraeri, era ndibazimba nga bwe baali olubereberye. Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona era bwe bansobya. N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo, n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'okukulakulana kwe ndibawa. “ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, mu kifo kino kye mwogerako nti, ‘Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo,’ mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise, nga temuli muntu, newakubadde azibeeramu, newakubadde ensolo, muliddamu okuwulirwa, eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti, Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera; n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndizzawo emikisa mu nsi eno, nga bwe byali olubereberye,” bw'ayogera Mukama w'eggye. “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu wadde ensolo, era mu bibuga byakyo byonna, muliddamu okubaamu amalundiro, n'olusiisira abasumba mwe bagalamiza ebisibo byabwe. Mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensenyi, ne mu bibuga eby'obukiikaddyo, mu nsi eya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda, ebisibo biriddamu okuyita wansi w'omukono gw'oyo abibala,” bw'ayogera Mukama. “Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndituukiriza ekisuubizo ekyo ekirungi kye nnayogera ku nnyumba ya Isiraeri ne ku nnyumba ya Yuda. Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo ndimereza Dawudi Ettabi ery'obutuukirivu; era oyo alikola eby'obwenkanya n'eby'obutuukirivu. Mu nnaku ezo Yuda alirokoka, ne Yerusaalemi kirituula mirembe. Era lino lye linnya lye kirituumibwa, nti, ‘Mukama bwe butuukirivu bwaffe.’” “Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku nnamulondo ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna; so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka emirembe gyonna.” Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana, n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo; era bwetyo ne ndagaano yange n'omuddu wange Dawudi eyinza okumenyebwa, aleme okuba n'omwana okufugira ku nnamulondo ye, n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange.” Ng'emmunyeenye ez'oku ggulu bwe zitayinzika kubalibwa, era ng'omusenyu ogw'ennyanja bwe gutayinza kupimika, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, “Weetegereza abantu bano bye boogedde nti, Enda zombi Mukama ze yalonda azisudde? Bwe batyo bwe banyooma abantu bange, nga tebekyababala nga eggwanga mu maaso gaabwe. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Bwemba nga sanyweza ndagaano yange ey'emisana n'ekiro, oba nga ssa ssaawo biragiro by'eggulu n'ensi; kale olwo nange ndisuula ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, ne sironda omu ku be zzadde lye okufuganga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. Ddala ndizaawo emikisa gyabwe, era ndibasaasira.” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, nga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'eggye lye lyonna, n'ensi zonna eza bakabaka ez'oku nsi zaatwala, n'abantu bonna abaali balwanyisa Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebikiriraanye. “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Genda ogambe Zeddekiya kabaka wa Yuda omubuulire nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, era alikyokya omuliro, so naawe toliwona mu mukono gwe, oliwambibwa n'oweebwayo mu mukono gwe; era oliraba kabaka w'e Babbulooni maaso ku maaso, era alyogera naye akamwa ku kamwa, era oligenda e Babbulooni.’ Era naye wulira ekigambo kya Mukama, ayi Zeddekiya kabaka wa Yuda; bw'ati bw'ayogera Mukama, ebikukwatako nti, ‘gwe tolifa na kitala; naye olifa mu mirembe. Era ng'abantu bwe baayotereza obubaane bajjajjaabo bassekabaka ab'edda abaakusooka, bwe batyo naawe bwe balikwotereza obubaane; era balikukungubagira nga boogera nti, Woowe, Mukama waffe!’ Kubanga njogedde ekigambo ekyo, bw'ayogera.” Awo Yeremiya nnabbi n'agamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ebigambo ebyo byonna mu Yerusaalemi, eggye lya kabaka w'e Babbulooni bwe lyali nga lirwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bisigaddewo, Lakisi ne Azeka; kubanga ebyo byokka bye bibuga bya Yuda ebyali bisigaddewo ebiriko enkomera. Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, oluvannyuma lwa kabaka Zeddekiya okukola endagaano n'abantu bonna abaali mu Yerusaalemi, okubalangirirako eddembe; buli muntu ate abaddu be Abaebbulaniya, oba basajja oba bakazi, waleme okubeerawo afuula Omuyudaaya muganda we omuddu. Awo abakungu bonna n'abantu bonna ne bagonda, abaali balagaanye endagaano buli muntu okuta omuddu we na buli muntu okuta omuzaana we okuba ow'eddembe, baleme kufuulibwa abaddu nate; ne bagonda ne babata, naye oluvannyuma ne bakyuka, ne bakomyawo abaddu n'abazaana be baali batadde, ne babafuga okuba abaddu n'abazaana. Ekigambo kya Mukama kyekyava kijja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Nalagaana endagaano ne bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri mu nnyumba ey'obuddu, nga njogera nti, ‘Emyaka musanvu bwe giggwangako, mutanga buli muntu muganda we Omwebbulaniya gwe baakuguza era eyakuweerereza emyaka mukaaga, omutanga okuba ow'eddembe okuva w'oli;’ naye bajjajjammwe ne batampulira, so tebaatega kutu kwabwe. Nammwe kaakano mwali mukyuse era nga mukoze ekiri mu maaso gange ekirungi, nga mulangirira eddembe buli muntu eri munne; era mwali mulagaanidde endagaano mu maaso gange mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange; naye ne mukyuka ne muvumisa erinnya lyange, ne mukomyawo buli muntu omuddu we na buli muntu omuzaana we, be mwali mutadde okuba ab'eddembe nga bwe baagala; ne mubafuga okuba gye muli abaddu n'abazaana. Mukama kyava ayogera bw'ati nti Temumpulidde okulangirira eddembe buli muntu eri muganda we na buli muntu eri munne; laba, nze nnangirira ku mmwe eddembe, eri ekitala, n'eri kawumpuli, n'eri enjala; era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka ez'oku ttaka. Era ndiwaayo abasajja abaasobya endagaano yange abatakoze bigambo bya ndagaano gye baalagaanira mu maaso gange, bwe baasala mu nnyana ebitundu ebibiri ne bayita wakati w'ebitundu byayo; abakungu ba Yuda n'abakungu ba Yerusaalemi, abalaawe ne bakabona n'abantu bonna ab'omu nsi abaayita wakati w'ebitundu by'ennyana; okuwaayo ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, n'emirambo gyabwe giriba mmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n'eri ensolo ez'omu nsi. Era Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be, ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babbulooni ababavuddeko abambuse. Laba, ndiragira, bw'ayogera Mukama, ne mbakomyawo ku kibuga kino; era balirwana nakyo ne bakimenya ne bakyokya omuliro, era ndifuula ebibuga bya Yuda amatongo nga temuli abibeeramu.” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyogera nti, “Genda eri ekika eky'Abalekabu oyogere nabo, obayingize mu kisenge ekimu, obawe omwenge banywe.” Kale ne ntwala Yazaniya mutabani wa Yeremiya, Yeremiya mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna n'ekika kyonna eky'Abalekabu; ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani, Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda, ekyali kiriraanye ekisenge eky'abakungu, ekyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omuggazi. ne nteeka ebita ebijjudde omwenge n'ebikompe mu maaso g'abaana b'ekika eky'Abalekabu, ne mbagamba nti, “Munywe omwenge.” Naye bo ne boogera nti, “Tetuunywe ku mwenge, kubanga Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe yatulagira ng'ayogera nti, ‘Temunywanga ku mwenge, mmwe, newakubadde batabani bammwe, emirembe gyonna; so temuzimbanga nnyumba, temusiganga nsigo, temusimbanga lusuku lwa mizabbibu, era temubanga nazo, naye munaamalanga ennaku zammwe zonna mu weema; mulyoke muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mutuulamu.’ Era twagondera eddoboozi lya Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe mu byonna bye yatukuutira, obutanywanga ku mwenge ennaku zaffe zonna, ffe ne bakazi baffe ne batabani baffe ne bawala baffe; newakubadde okwezimbira ennyumba ez'okubeeramu. Tetulina lusuku lwa mizabbibu, newakubadde ennimiro, wadde ensigo; naye tubeera mu weema, era twagondera n'okukola nga byonna bwe byali Yonadaabu jjajjaffe bye yatulagira. Naye olwatuuka Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bwe yatabaala ensi, ne twogera nti, ‘Mujje tugende e Yerusaalemi olw'okutya eggye ery'Abakaludaaya n'eggye ery'Abasuuli;’ kyetuva tubeera e Yerusaalemi.” Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Genda obagambe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti, Temukkirize kuyigirizibwa n'okuwuliriza ebigambo byange? Bw'ayogera Mukama. Ekiragiro kya Yonadaabu mutabani wa Lekabu kye yalagira batabani be, obutanywanga ku mwenge, kyagonderwa, so tebanywako na guno gujwa, kubanga bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe, naye nze n'ayogera nammwe, obutayosa; so temumpulirizanga. Mbatumidde abaddu bange bonna bannabbi, nga mbatuma obutayosa, nga njogera nti, Mudde nno buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi, mulongoose ebikolwa byammwe, so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga, kale mulituula mu nsi gye nnawa mmwe ne bajjajjammwe; naye temwatega kutu kwammwe oba okumpuliriza. Kale batabani ba Yonadaabu mutabani wa Lekabu batuukirizza ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde. Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndireeta ku Yuda ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi obubi bwonna bwe nnaakaboogerako; kubanga n'ayogera nabo, naye ne batawulira; era mbayise, naye ne batayitaba.” Awo Yeremiya n'agamba ekika eky'Abalekabu nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjammwe ne mukwata byonna bye yabakuutira ne mukola nga byonna bwe byali bye yabalagira; n'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Yonadaabu mutabani wa Lekabu taabulwenga musajja wa kuyimirira mu maaso gange ennaku zonna.” Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama nga kyogera nti, “Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiike omwo ebigambo byonna bye nkubuulidde ebikwata ku Isiraeri, ne ku Yuda, ne ku mawanga gonna, okuva ku lunaku lwe nnayogera naawe, okuva ku mirembe gya Yosiya n'okutuusa leero. Mpozzi ennyumba ya Yuda baliwulira obubi bwonna bwe nteesa okubakola; era buli muntu n'akyuka okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nsonyiwe obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe.” Awo Yeremiya n'ayita Baluki mutabani wa Neriya; Baluki n'awandiika ku muzingo gw'ekitabo, nga Yeremiya bwe yamubuulira ebigambo byonna ebya Mukama, bye yali ayogedde naye. Awo Yeremiya n'alagira Baluki ng'ayogera nti, “Nsibiddwa; siyinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama; kale genda ggwe osome mu muzingo gw'owandiise ng'oggyamu bigambo bye nkubuulidde, ebigambo bya Mukama mu matu g'abantu mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusiibirako; era obisomanga ne mu matu g'abantu bonna aba Yuda abava mu bibuga byabwe. Mpozzi balireeta okwegayirira kwabwe mu maaso ga Mukama, ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; kubanga obusungu n'ekiruyi Mukama by'ayogedde ku bantu bano binene.” Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akola nga byonna bwe byali Yeremiya nnabbi bye yamulagira, ng'asoma mu kitabo ebigambo bya Mukama mu nnyumba ya Mukama. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'omwenda, abantu bonna abaali mu Yerusaalemi n'abantu bonna abaava mu bibuga bya Yuda ne bajja e Yerusaalemi ne balangirira okusiiba mu maaso ga Mukama. Awo Baluki n'asoma mu kitabo ebigambo byonna Yeremiya bye yali amubuulidde; mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, ekyali waggulu w'oluggya olw'engulu, okumpi n'o mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama mu matu g'abantu bonna. Awo Mikaaya mutabani wa Gemaliya, Gemaliya mutabani wa Safani, n'awulira ebigambo byonna ebya Mukama okuva mu kitabo, n'aserengeta mu nnyumba ya kabaka mu kisenge eky'omuwandiisi, kale, laba, abakungu bonna nga batudde omwo, Erisaama omuwandiisi ne Deraya mutabani wa Semaaya ne Erunasani mutabani wa Akubooli ne Gemaliya mutabani wa Safani ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya n'abakungu bonna. Awo Mikaaya n'alyoka ababuulira ebigambo byonna bye yali awulidde, Baluki bwe yasoma mu muzingo nga abantu bonna bawulira. Abakungu bonna kyebaava batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya, Nesaniya mutabani wa Seremiya, Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki bamugambe nti, “Kwata omuzingo gw'ekitabo gw'osomedde abantu mu mukono gwo, ojje.” Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akwata omuzingo mu mukono gwe n'ajja gye baali. Ne bamugamba nti, “Tuula obitusomere.” Kale Baluki n'abibasomera. Awo olwatuuka bwe baamala okuwulira ebigambo ebyo byonna, ne batunulaganako nga batidde, ne bagamba Baluki nti, “Tetuuleme kubuulira kabaka ebigambo ebyo byonna.” Ne babuuza Baluki nti, “Tubuulire nno, wawandiika otya ebigambo ebyo byonna, yali abikusomera?” Awo Baluki n'abaddamu nti, “Ye yambuulira ebigambo n'akamwa ke, nange ne mbiwandiika ne bwino mu muzingo.” Awo abakungu ne bagamba Baluki nti, “Genda weekweke, ggwe ne Yeremiya; so omuntu yenna aleme okumanya gye muli.” Awo ne bayingira eri kabaka mu luggya; nga bamaze okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi; ne babuulira kabaka ebigambo byonna. Awo kabaka n'atuma Yekudi okukima omuzingo, era n'aguggya mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi. Awo Yekudi n'agusomera kabaka, n'abakungu be bonna abaayimirira okuliraana kabaka. Gwali mwezi gwa mwenda, era kabaka yali atudde mu nnyumba ey'ebiro eby'obutiti nga omuliro guli mu lubumbiro nga gwaka mu maaso ge. Awo olwatuuka Yekudi bwe yamala okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'agusala n'akambe ak'omuwandiisi, n'agusuula mu muliro ogwali mu lubumbiro, omuzingo ne guggiira mu muliro ogwali mu lubumbiro. Naye newakubadde Kabaka, wadde omu ku baddu be, abaawulira ebigambo ebyo byonna, tebaatya, so tebaayuza byambalo byabwe. Newakubadde nga Erunasani ne Deraya ne Gemaliya beegayirira kabaka aleme kwokya muzingo gwa kitabo, naye n'atakkiriza kubawuliriza. Awo kabaka n'alagira Yerameeri omwana wa kabaka, ne Seraya mutabani wa Azuliyeeri, ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne Yeremiya nnabbi, naye Mukama n'abakweka. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya, kabaka ng'amaze okwokya omuzingo okwali ebigambo Baluki bye yawandiika, Yeremiya bye yamubuulira, nga kyogera nti, “Ddira nate omuzingo omulala, owandiike omwo ebigambo byonna ebyasooka ebyali mu muzingo ogwolubereberye Yekoyakimu kabaka wa Yuda gw'ayokezza. Era ebikwata ku Yekoyakimu kabaka wa Yuda olyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Oyokezza omuzingo guno ng'oyogera nti, Kiki ekikuwandiisizza mugwo ng'oyogera nti, Kabaka w'e Babbulooni talirema kujja n'azikiriza ensi eno, era alimalawo mu nsi omuntu n'ensolo?’” “Mukama kyava ayogera ebikwata ku Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti ‘Taliba na wa kutuula ku nnamulondo ya Dawudi, n'omulambo gwe gulisuulibwa eri olubugumu emisana n'eri empewo ekiro. Era ndimubonereza n'ezzadde lye n'abaddu be olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndibaleetako, ne bonna ababeera mu Yerusaalemi, ne ku basajja ba Yuda obubi bwonna bwe nnaakaboogerako, naye ne batawulira.’ ” Awo Yeremiya n'addira omuzingo ogwokubiri, n'aguwa Baluki omuwandiisi mutabani wa Neriya; ye n'awandiika mu muzingo ng'aggya mu bigambo Yeremiya bye yamubuulira, ebigambo byonna eby'omu kitabo Yekoyakimu kabaka wa Yuda kye yayokya mu muliro; era ne byongerwako ebigambo bingi ebibifaanana. Awo Zeddekiya mutabani wa Yosiya, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni gwe yafuula kabaka mu nsi ya Yuda, n'afuga mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu. Naye newakubadde Zeddekiya, oba abaddu be wadde abantu ab'omu nsi, tebawulira bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya. Awo kabaka Zeddekiya n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'agamba nti, “Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe.” Era Yeremiya yayingiranga n'afulumanga mu bantu, kubanga baali tebannamuteeka mu kkomera. Eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizizza Yerusaalemi bwe baawulira amawulire agabakwatako, ne basaasaana okuva mu Yerusaalemi. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri nnabbi Yeremiya nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eribadde lizze, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri. Era Abakaludaaya balikomawo ne balwanyisa ekibuga kino; era balikimenya ne bakyokya omuliro.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Temwerimba nga mwogera nti “Abakaludaaya tebalirema kutuvaako;” kubanga tebalibavaako. “Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe, ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, abagalamidde mu weema zaabwe, era abo banaagolokoka ne bookya ekibuga kino omuliro.” Awo olwatuuka eggye ery'Abakaludaaya bwe lyamala okusaasaana okuva ku Yerusaalemi olw'okutya eggye lya Falaawo, kale Yeremiya n'afuluma mu Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe mu bantu be. Awo bwe yali ku mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa eyali awo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya, Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti, “Otoloka osenge Abakaludaaya.” Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Olimba sitoloka kusenga Bakaludaaya;” naye Iriya n'atamuwuliriza, era n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu. Awo abakungu ne basunguwalira Yeremiya ne bamukuba ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi; kubanga ennyumba eyo gye baali bafudde ekkomera. Awo Yeremiya bwe yatuuka mu kasenge mu nnyumba ey'obunnya, era ng'amazeemu ennaku nnyingi; awo Zeddekiya kabaka n'amutumya era naamusembeza; kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti, “Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama?” Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Weekiri.” Era n'ayogera nti, “Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni.” Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti, “Nali nkwonoonye mu ki ggwe, oba abaddu bo, oba abantu bano, n'okuteeka ne munteeka mu kkomera? Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babbulooni talibatabaala mmwe, newakubadde ensi eno? Kale nno wulira, nkwegayiridde, ayi mukama wange kabaka, okwegayirira kwange kukkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo.” Kale kabaka Zeddekiya n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa. Awo Sefatiya mutabani wa Mallani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Seremiya ne Pasukuli mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yabuulira abantu bonna ng'ayogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Asigala mu kibuga muno alifa ekitala, n'enjala, ne kawumpuli; naye oyo anafuluma n'agenda eri Abakaludaaya, aliba mulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali, era aliba mulamu. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ekibuga kino tekirirema kuweebwayo mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babbulooni, naye alikimenya.” Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Tukwegayiridde, omusajja ono attibwe; kubanga anafuya abasajja abalwanyi, awamu n'abantu bonna abasigadde mu kibuga muno, ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo: kubanga omusajja ono tayagaliza bantu bano mirembe, wabula obubi.” Awo Zeddekiya kabaka n'ayogera nti, “Laba, ali mu mikono gyammwe, kubanga kabaka, talina kyayinza kukola okubaziyiza.” Awo ne batwala Yeremiya ne bamusuula mu luzzi lwa Malukiya omwana wa kabaka, olwali mu luggya olw'abambowa, ne basuulamu Yeremiya nga bakozesa emigwa. So mu luzzi temwali mazzi wabula ebitosi, Yeremiya n'atubira mu bitosi. Awo Ebedumereki Omuwesiyopya omulaawe eyali mu nnyumba ya kabaka n'awulira nga batadde Yeremiya mu luzzi. Kabaka yali ng'atudde mu mulyango gwa Benyamini; awo Ebedumereki n'ava mu nnyumba ya kabaka, n'agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi okusuula Yeremiya nnabbi mu luzzi; era ajja kufiira omwo enjala, kubanga tewakyali mmere yonna mu kibuga.” Awo kabaka n'alyoka alagira Ebedumereki Omuwesiyopya ng'ayogera nti, “Twala abasajja asatu (30), ogende nabo, oggyeyo Yeremiya nnabbi mu luzzi nga tannafa.” Awo Ebedumereki n'atwala abasajja abo n'agenda nabo, n'ayingira mu nnyumba ya kabaka, mu kasenge ak'etterekero, n'aggyayo ebiwero ebikadde ebyasuulibwa n'enziina envundu, ebyo n'abissiza ku migwa mu luzzi Yeremiya mwe yali. Awo Ebedumereki Omuwesiyopya n'agamba Yeremiya nti, “Teeka nno ebiwero bino ebikadde, n'enziina envundu mu nkwawa zo wansi w'emigwa.” Awo Yeremiya n'akola bw'atyo. Awo ne baggya Yeremiya mu luzzi nga bamusika n'emigwa egyo, awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa. Awo Zeddekiya kabaka n'atumya Yeremiya nnabbi, era n'amusisinkana ku mulyango ogwokusatu oguli mu nnyumba ya Mukama; awo kabaka n'agamba Yeremiya nti, “Naakubuuza ekigambo; tonkisa kigambo kyonna.” Awo Yeremiya n'agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakubuulira, tonzite? Era ne bwe nnaakuwa amagezi, tojja kumpuliriza.” Awo kabaka Zeddekiya n'alayirira Yeremiya, mu kyama ng'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, eyakola emmeeme zaffe, sijja kukutta, wadde okukuwaayo mu mukono gw'abantu bano abanoonya obulamu bwo.” Awo Yeremiya n'alyoka agamba Zeddekiya nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Bw'onoofuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, kale obulamu bwo buliwonyezebwa, n'ekibuga kino tekiryokebwa muliro; era gwe n'ennyumba yo muliba balamu. Naye bw'oteweeyo eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, kale ekibuga kino kiriweebwayo mu mukono gw'Abakaludaaya, era balikyokya omuliro, so naawe toliwona mu mukono gwabwe.” Awo kabaka Zeddekiya n'agamba Yeremiya nti, “Ntidde Abayudaaya abasenze Abakaludaaya, bayinza okumpaayo eri Abakaludaaya ne bambonyaabonya.” Naye Yeremiya n'ayogera nti, “Tebalikuwaayo, nkwegayiridde, gondera eddoboozi lya Mukama mu ekyo kye nkugamba; kale lw'onoobera obulungi, era n'obulamu bwo bunawonyezebwa. Naye bw'onoogana okwewaayo, kuno kwe kwolesebwa Mukama kwandaze, Laba abakazi bonna abaasigala mu nnyumba ya kabaka wa Yuda, baali baafulumizibwa eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, era baali boogera nti, ‘Mikwano gyo beewesiganga baakulimba, era baakuwangudde. Kaakati balabye ebigere byo bitubidde mu bitosi, bakyuse bakuvuddeko.’ Bakazi bo bonna n'abaana bo balibafulumya eri Abakaludaaya, era gwe kennyini toliwona mu mukono gwabwe, naye oliwambibwa kabaka w'e Babbulooni; era ekibuga kino balikyokya omuliro.” Awo Zeddekiya n'alyoka agamba Yeremiya nti, “Omuntu yenna aleme okumanya ebigambo ebyo, era togenda kufa. Naye abakungu bwe baliwulira nga njogedde naawe ne bajja ne bakugamba nti, ‘Tubuulire nno bye wagamba kabaka, era ne kabaka bye yakugamba; totukisa, naffe tetuukutte;’ kale n'olyoka obagamba nti, ‘N'aleeta okwegayirira kwange mu maaso ga kabaka aleme okunzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani okufiira omwo.’ ” Awo abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya ne bamubuuza, n'ababuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali kabaka bye yali alagidde. Awo ne bamuleka kubanga tewali yali awulidde ebyayogerwa. Awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa okutuusa ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda, ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi (10), Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, n'eggye lye lyonna n'alumba Yerusaalemi n'akizingiza; mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Zeddekiya, mu mwezi ogwokuna ku lunaku ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwo, Abakaludaaya ne batema ekituli mu kibuga. Yerusaalemi bwe kyawambibwa, abakungu bonna aba kabaka w'e Babbulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati; Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonna abalala aba kabaka w'e Babbulooni. Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro, nga bayitira mu kkubo ery'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri; ne bagenda nga boolekedde Alaba. Naye eggye ery'Abakaludaaya ne libawondera, ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi e'ze Yeriko; ne bawamba Zeddekiya, awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango. Awo kabaka w'e Babbulooni n'attira batabani ba Zeddekiya e Libula, nga Zeddekiya yennyini alaba, era kabaka w'e Babbulooni n'atta n'abakungu bonna aba Yuda. Era n'atungulamu Zeddekiya amaaso, n'amusiba n'amasamba okumutwala e Babbulooni. Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n'ennyumba ez'abantu omuliro, ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi. Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babbulooni nga basibe abantu bonna, abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n'abo abaali badduse ne beewaayo eri Abakaludaaya. Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka mu nsi ya Yuda, abamu ku baavu abatalina kintu, n'abawa ensuku ez'emizabbibu n'ennimiro. Awo Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebikwata ku Yeremiya ng'ayogera nti, “Mutwale omulabirire bulungi, so tomukola kabi; naye omukolanga era nga ye bw'anaakugambanga.” Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, Nebusazubaani, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, n'abaami bonna abakulu aba kabaka w'e Babbulooni; ne batumya Yeremiya, ne bamuggya mu luggya olw'abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka; awo n'abeera mu bantu. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya bwe yali ng'asibiddwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti, “Genda ogambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndituukiriza ebigambo byange ku kibuga kino, olw'obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku olwo. Naye ggwe ndikuwonyeza ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, so toliweebwayo mu mukono gw'abasajja b'otya. Kubanga sirirema kukulokola, togenda kuttibwa, naye obulamu bwo buliba munyago gy'oli, kubanga weesize nze, bw'ayogera Mukama.’ ” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama, oluvannyuma lwa Nebuzaladaani omukulu w'abambowa okumuteera mu Laama, bwe yamutwala ng'asibiddwa mu masamba, awamu n'abawambe bonna ab'e Yerusaalemi ne Yuda abaali bawaŋŋangusirizibwa e Babbulooni. Omukulu w'abambowa n'atwala Yeremiya n'amugamba nti, “ Mukama Katonda wo yalangirira obubi buno ku kifo kino; Mukama abutuukiriza, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kino kyekivudde kibatuukako. Kale nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng'osiima okujja nange okugenda e Babbulooni, jjangu, nange nnaakukuumanga bulungi; naye oba ng'okiyita kibi okujja nange e Babbulooni, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go; gy'osiima okugenda era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda. Naye bw'osigala, Ddayo nno eri Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w'e Babbulooni gw'awadde okufuga ebibuga byonna ebya Yuda, obeere naye mu bantu; oba oyinza okugenda yonna gy'osiima okugenda.” Awo omukulu w'abambowa n'amuwa eby'okulya n'ekirabo, era n'amuta. Awo Yeremiya n'agenda eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, n'abeera naye mu bantu, abaali basigadde mu nsi. Awo abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo, ne basajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w'e Babbulooni awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu okufuga ensi, era ng'amukwasizza abasajja n'abakazi n'abaana abato, abo abasinga obwavu mu nsi, abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babbulooni; awo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w'omu Maakasi, bo ne basajja baabwe. Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani n'abalayirira bo n'abasajja baabwe ng'ayogera nti, “Temutya kuweereza Abakaludaaya, mubeere mu nsi, muweerezenga kabaka w'e Babbulooni, era munaabanga bulungi. Naye nze, laba, nnaabeeranga e Mizupa okubakiikiriranga mmwe, eri Abakaludaaya abalijja gyetuli; naye mmwe mukuŋŋaanye omwenge, n'ebibala eby'omu kyeya, n'amafuta, mubiteeke mu bintu byammwe, mubeerenga mu bibuga byammwe bye mututte.” Era bwe batyo n'Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu, ne mu baana ba Amoni, ne mu Edomu n'abo abaali mu nsi endala zonna bwe baawulira nga kabaka w'e Babbulooni, yaleka Abayudaaya abamu abaafikkawo okusigala mu Yuda, era ng'akuzizza ku bo Gedaliya mutabani wa Akikaamu, Akikamu mutabani wa Safani; kale Abayudaaya bonna ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali babagobedde ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge n'ebibala eby'omu kyeya bingi nnyo nnyini. Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Baalisi kabaka w'abaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'atabakkiriza. Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng'agamba nti, “Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya; yandikuttidde ki, Abayudaaya bonna abakukuŋŋaaniddeko ne basaasaana, era n'abantu bonna abaafikkawo abasigala mu Yuda ne bazikirira?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kigambo ekyo, kubanga Isimaeri omuwaayiriza.” Awo olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya, Nesaniya mutabani wa Erisama, ow'olulyo olulangira, era omu ku baami abakulu aba kabaka, najja ng'ali n'abasajja kkumi (10), eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, awo bwe baali baliira wamu emmere e Mizupa; Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abasajja ekkumi (10) abaali naye, ne basituka ne bafumita Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani n'ekitala ne bamutta, oyo kabaka w'e Babbulooni gwe yali awadde okufuga ensi. Era Isimaeri n'atta n'Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, awamu n'Abakaludaaya abalwanyi abaasangibwayo. Awo olwatuuka ku lunaku olwaddirira, okuttibwa kwa Gedaliya, nga tewannabaawo muntu yenna akimanya; abasajja kinaana (80) ne batuuka nga bava e Sekemu ne Siiro ne Samaliya, nga bamwedde ebirevu byabwe n'ebyambalo byabwe nga babiyuzizza, era nga beesaze emisale, nga baleese ebitone eby'empeke, era n'obubaane eby'okuwaayo mu nnyumba ya Mukama. Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ava mu Mizupa okubasisinkana, ng'agenda akaaba amaziga; awo olwatuuka bwe yasisinkana nabo, n'abagamba nti, “Mujje muyingire eri Gedaliya mutabani wa Akikamu.” Awo olwatuuka bwe baatuuka wakati mu kibuga, Isimaeri mutabani wa Nesaniya, n'abasajja abaali naye, n'abatta bonna n'ebasuula emirambo gyabwe mu luzzi. Naye mu bo mwalimu abasajja kkumi (10) abaagamba Isimaeri nti, “Totutta, kubanga tulina; eŋŋaano ne sayiri, n'amafuta, n'omubisi gw'enjuki ebikwekeddwa mu nnimiro.” Awo n'atabattira wamu ne baganda baabwe. Era oluzzi Isimaeri mwe yasuula emirambo gyonna egy'abasajja be yatta, lwe luzzi olugazi kabaka Asa kabaka lwe yali asimye, okwetaasa bwe yalumbibwa Baasa kabaka wa Isiraeri, Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'alujjuza emirambo egy'abo abattibwa. Awo Isimaeri n'atwala nga basibe abo bonna abaafikkawo abaali mu Mizupa, abawala ba kabaka n'abantu bonna abaalekebwa e Mizupa, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa be yali ateresezza Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abatwala nga basibe, n'agenda okusomoka okugenda eri abaana ba Amoni. Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye bwe baawulira obubi bwonna Isimaeri mutabani wa Nesaniya bwe yali akoze, kale ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwana ne Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne bamusanga awali ekidiba ekinene ekiri mu Gibyoni. Awo olwatuuka abantu bonna abaali ne Isimaeri bwe baalaba Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, ne basanyuka. Awo abantu bonna Isimaeri be yali atutte nga basibe okubaggya e Mizupa, ne bakyuka ne baddayo, ne bagenda eri Yokanani mutabani wa Kaleya. Naye Isimaeri mutabani wa Nesaniya, naatoloka ku Yokanani ng'alina abasajja munaana, n'agenda eri abaana ba Amoni. Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye ne batwala ekitundu kyonna ekya bantu abali bafisseewo, Isimaeri mutabani wa Nesaniya, beeyali atutte nga basibe okuva e Mizupa, bwe yamala okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu, abasajja abalwanyi, abakazi, abaana abato, n'abalaawe, Yokanani be yali akomezaawo okuva e Gibyoni. Awo ne baddayo ne babeera mu Gerusukimamu ekiriraanye Besirekemu, nga bagala okuyingira mu Misiri, olw'Abakaludaaya, kubanga baali babatidde, olwa Isimaeri mutabani wa Nesaniya eyatta Gedaliya mutabani wa Akikamu kabaka w'e Babbulooni gwe yali awadde okufuga ensi eyo. Awo abaami bonna ab'ebitongole ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya n'abantu bonna abato n'abakulu ne basembera, ne bagamba Yeremiya nnabbi nti, “Tukwegayiridde, okusaba kwaffe kukkirizibwe gyoli, otusabire eri Mukama Katonda wo, ng'osabira ffe ffenna abasigaddewo; kubanga tusigaddewo batono fekka abaabanga abangi ng'amaaso go bwe gatulaba; Mukama Katonda wo atulage ekkubo eritugwanira okutambuliramu, era n'ekigambo ekitugwanira okukola.” Awo Yeremiya nnabbi n'abaddamu nti, “Mbawulidde; laba, nja kusaba Mukama Katonda wammwe nga bwe mugambye; kale olulituuka kyonna Mukama ky'alibaddamu ndikibabuulira; siribakisa kigambo kyonna.” Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abe omujulizi ow'amazima era omwesigwa gyetuli, bwe tutalikola ng'ekigambo kyonna Mukama, Katonda wo ky'alikutuma gyetuli. Oba nga kirungi oba nga kibi, tuligondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe gye tukutuma; tulyoke tubenga bulungi bwe tunagonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda waffe.” Awo olwatuuka ennaku kkumi (10) bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya. Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, n'abagamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri gye mwantuma okwanjula okusaba kwammwe nti, Bwe mulikkiriza okubeera mu nsi eno, kale ndibazimba, so siribaabya, era ndibasimba, so siribasimbula, kubanga nejjusizza obubi bwe nnabakola. Temutya kabaka w'e Babbulooni, oyo gwe mweralikirira; temumutya, bw'ayogera Mukama, kubanga nze ndi wamu nammwe okubalokola n'okubawonya mu mukono gwe. Ndibawa mmwe okusaasirwa, alyoke abakwatirwe ekisa, era abaleke musigale mu nsi yammwe. Naye bwe munaagamba nti, ‘Tetujja kusigala mu nsi eno;’ ne mutagondera ddoboozi lya Mukama, Katonda wammwe; nga mwogera nti, ‘Nedda; naye tuligenda mu nsi y'e Misiri gye tutalirabira ntalo, era gye tutaliwulirira ddoboozi lya kkondeere, wadde okulumwa enjala; eyo gye tulituula;’ kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafisseewo ku Yuda,” bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, bwe muba nga mumaliridde ddala okuyingira mu Misiri, era ne mugenda okubeera omwo; kale olulituuka ekitala kye mutya kiribakwatira eyo mu nsi y'e Misiri, n'enjala gye mutidde eribacoccera eyo mu Misiri; era eyo gye mulifiira. Abasajja bonna abamaliridde okugenda e Misiri okubeera eyo; balifa n'ekitala, n'enjala, ne kawumpuli; so tewaliba ku bo abalifikkawo wadde abaliwona bwe ndibaleetako. “Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, nga obusungu bwange n'ekiruyi kyange bwe byafukibwa ku abo abaali mu Yerusaalemi, ekiruyi kyange bwe kirifukibwa ku mmwe bwe kityo, bwe muliyingira mu Misiri; muliba ekikyayibwa, ekitiisa, ekikolimo n'ekyewuunyo, so temuliraba nate kifo kino. Mukama ayogedde ku mmwe, ayi ekitundu ekifisseewo ku Yuda, nti, ‘Temugenda mu Misiri,’ mutegeerere ddala nga leero nze mbalabudde. Kubanga mukoze eby'obukuusa era mutunze obulamu bwammwe, kubanga mwantuma eri Mukama Katonda wammwe nga mwogera nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe; era nga byonna bwe biriba Mukama, Katonda waffe by'alyogera, naffe tulibikola;’ era leero mbibabuulidde; naye temugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe mu byonna by'antumye gye muli. Kale nno mutegeerere ddala nga mulifa n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, mukifo gye mwagala okugenda okubeera.” Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n'abantu bonna ebigambo byonna ebya Mukama Katonda waabwe, Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gyebali; awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mutabani wa Kaleya n'abasajja bonna ab'amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba, Mukama Katonda waffe takutumye kwogera nti, ‘Temugenda Misiri okubeera eyo;’ naye Baluki mutabani wa Neriya ye akutuwendulidde okutugabula mu mukono gw'Abakaludaaya balyoke batutte, oba batutwale e Babbulooni nga tuli basibe.” Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole n'abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okusigala mu nsi ya Yuda. Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda, abaafikkawo abaali bakomyewo okubeera mu Yuda, okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde; abasajja, n'abakazi n'abaana abato n'abawala ba kabaka, na buli muntu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa gwe yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya; ne bayingira mu nsi ye Misiri, kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama, ne batuuka e Tapanesi. Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya e Tapanesi nga kyogera nti, “Twala mu mikono gyo amayinja amanene, ogakweke mu ttaka ery'omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, nga abasajja ba Yuda balaba; obagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, omuddu wange, ne nteeka entebe, ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go. Era alijja n'akuba ensi y'e Misiri; ab'okuttibwa baliweebwayo eri okuttibwa, n'ab'obusibe eri obusibe, n'ab'ekitala eri ekitala. Era alikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b'e Misiri; era alibookya n'abatwala nga basibe, era alirongoosa ensi y'e Misiri ng'omusumba bw'alongoosa ekyambalo kye, okukiggyamu obuwuka, era alivaayo mirembe. Era alimenya empagi ez'e Besusemesi ekiri mu nsi y'e Misiri; n'ennyumba za bakatonda b'e Misiri zonna alizookya omuliro.’ ” Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ku bikwata ku Bayudaaya bonna abaabeera mu nsi y'e Misiri, e Migudooli ne Tapanesi ne Noofu ne mu kitundu ky'e Pasuloosi, nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Mulabye obubi bwonna bwe nnaleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda; era, laba, leero byonna matongo, so tewali muntu abibeeramu; olw'obubi bwabwe bwe baakola okunsomooza okusunguwala, kubanga baagenda okwoteza obubaane n'okuweereza bakatonda abalala bo bennyini be batamanyanga, newakubadde mmwe, wadde bajjajjammwe.” “Era naye nnabatumiranga abaddu bange bonna bannabbi, obutasalako, nga njogera nti, ‘Abaffe! temukola kigambo kino eky'omuzizo kye nkyawa!’ Naye bo ne batawuliriza so tebaatega kutu, okukyuka okuleka obubi bwabwe, obutayoterezanga bakatonda abalala obubaane. N'olw'ekyo ekiruyi kyange n'obusungu bwange kyebwava bufukibwa ne bubuubuuka mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; era bizise, bifuuse matongo birekeddwa awo, nga bwe kiri leero.” Kale nno Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ababuuza bw'ati nti, Lwaki mwekolako ekibi ekyenkana awo, okuzikiriza wakati mu mmwe omusajja n'omukazi, omwana omuto n'ayonka, okuva mu Yuda, waleme kusigalawo n'omu ku b'olulyo lwammwe? Lwaki munsomoza okusunguwala olw'emirimu egy'emikono gyammwe, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane mu nsi y'e Misiri gye mwagenda okubeera? Mukola bwe mutyo, mulyoke mumalibwewo, era mubeere ekikolimo n'ekivume mu mawanga gonna ag'omu nsi? Mwerabidde obubi bwa bajjajjammwe, n'obubi bwa bassekabaka ba Yuda, n'obubi bwa bakazi baabwe, obubi bwammwe, n'obubi bwa bakazi bammwe bwe baakolera mu nsi ya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi? Naye tebannetoowaza n'okutuusa kaakano so tebannatya, wadde okutambulira mu mateeka n'ebiragiro byange bye nnateeka mu maaso gammwe ne mu maaso ga bajjajjammwe. Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, nditeeka amaaso gange okuboolekera olw'obubi, okuzikiriza Yuda yenna. Era ndiddira ekitundu kya Yuda ekifisseewo abamaliridde okugenda mu nsi y'e Misiri okutuula eyo, era bonna balimalibwawo; mu nsi y'e Misiri; mwe balizikiririra, balimalibwawo n'ekitala n'enjala; balifa, okuva ku muto okutuuka ku mukulu, balifa n'ekitala n'enjala, era baliba ekikyayibwa, ekitiisa, ekikolimo n'ekyewuunyo. Kubanga ndibonereza abo abatuula mu nsi y'e Misiri nga bwe nnabonereza Yerusaalemi, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, bw'ekityo tekuliba ku kitundu kya Yuda ekifisseewo abaagenda mu nsi y'e Misiri okutuula eyo, aliwona wadde alisigalawo, oba okudda mu nsi ya Yuda gye baayagala okudda okubeera; kubanga tewaliba abalikomawo wabula abo abalidduka akabi.” “Awo abasajja bonna abaamanya ng'abakazi baabwe bootereza bakatonda abalala obubaane, n'abakazi bonna abaali bayimiridde awo, ekibiina ekinene, abantu bonna abaali batuula mu nsi y'e Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti, ‘Ekigambo ky'otubuuliridde mu linnya lya Mukama tetuukuwulire. Naye tulikola buli kintu kye tweyama okukola, okwoterezanga obubaane kabaka w'eggulu omukazi, n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bajjajjaffe, ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; kubanga olwo lwe twabanga n'eby'okulya ebingi, ne tuba bulungi ne tutalaba kabi. Naye kasookedde tulekayo okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tubadde mu kudaaga, n'okumalibwawo ekitala n'enjala.’ ” Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tekwali nga kukkiriza kwa babbaffe bwe twafumbanga emigaati egiriko ekifaananyi kye, n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa?” Awo Yeremiya n'agamba abantu bonna, abasajja n'abakazi, abaali bamuzzeemu nti, “Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mmwe ne bajjajjammwe, ne bassekabaka bammwe, n'abakungu bammwe, n'abantu bonna ab'omu nsi, mulowooza nti Mukama taabujjukira era tekyajja mu mwoyo gwe? Mukama yali takyayinza kugumiikiriza bibi byammwe, n'emizizo gye mwakola; ensi yammwe kyevudde efuuka amatongo, n'ekyewuunyo n'ekikolimo, nga tewali agituulamu, nga bwe kiri leero. Kubanga mwayoteza obubaane, era kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lya Mukama, era temutambulidde mu mateeka ge newakubadde mu biragiro bye, wadde mu ebyo bye yategeeza; obubi buno kyebuvudde bubatuukako, nga bwe kiri leero.” Era nate Yeremiya n'agamba abantu bonna, n'abakazi bonna nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mmwe ne bakazi bammwe mulangiridde n'emimwa gyammwe, era mukituukirizza n'emikono gyammwe, nga mwogera nti, Tetulirema kutuukiriza bweyamo bwaffe bwe tweyama okwoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukiranga ebiweebwayo eby'okunywa. Kale mukakase obweyamo bwammwe era mutuukirize obweyamo bwammwe. Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mmwenna abantu ba Yuda ababeera mu nsi y'e Misiri; laba, ndayidde erinnya lyange ekkulu, bw'ayogera Mukama, ng'erinnya lyange terikyakoowoolwa nate mu kamwa k'omuntu yenna owa Yuda mu nsi yonna ey'e Misiri, ng'ayogera nti,‘ Nga Mukama Katonda bw'ali omulamu.’ Laba, mbalabirira olw'obubi so si lwa bulungi; n'abasajja bonna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri balimalibwawo ekitala, n'enjala okutuusa lwe baliggwaawo. N'abo abaliwona ekitala balikomawo okuva mu nsi y'e Misiri ne bajja mu nsi ya Yuda, omuwendo gwabwe nga mutono; n'ekitundu kyonna ekya Yuda abaliba basigaddewo, balimanya kigambo kyani ekiriyimirira, ekyange oba ebyabwe. Era kano ke kanaaba akabonero gye muli, bwayogera Mukama nga ndibabonereza mu kifo kino mulyoke mumanye ng'ebigambo byange, tebirirema kuyimirira gye muli olw'obubi; bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo Falaawo Kofera kabaka w'e Misiri mu mukono gw'abalabe be ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwe; nga bwe n'awaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni omulabe we era eyali anoonya obulamu bwe.” Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya, bwe yawandiika ebigambo bino mu kitabo ng'aggya mu bigambo Yeremiya bye yamugamba mu mwaka ogwokuna nga Yekoyakimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Yuda, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, eri ggwe, Baluki, Wayogera nti, Zinsanze kaakano! kubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna. Bw'oti bw'oba omugamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ekyo kye nnazimba ndikyabya, n'ekyo kye nnasimba ndikisimbula; era bwe ndikola bwe ntyo mu nsi yonna. Era weenoonyeza ebikulu? Nedda, tobinoonya, kubanga, laba ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, bw'ayogera Mukama, naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago mu bifo byonna gy'onoogendanga.” Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi nga kikwata ku mawanga. Ebya Misiri, ebikwata ku ggye lya Falaawoneko kabaka w'e Misiri eryali ku lubalama lw'omugga Fulaati e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni lye yawangula mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda. “Muteeketeeke akagabo n'engabo era musembere okulwana! Muteeke amatandiiko ku mbalaasi, mulinnye mmwe abeebagala embalaasi! Muyimirire mu bifo byammwe nga mulina enkuufiira, muzigule amafumu gammwe, mwambale ebizibawo eby'ebyuma! Lwaki nkirabye? Bakeŋŋentereddwa, bazze emabega; abalwanyi baabwe baakubiddwa, era badduse mbiro, so tebatunula mabega, entiisa eri ku njuyi zonna! bw'ayogera Mukama. Ab'embiro tebayinza kudduka, so n'abalwanyi tebasobola kutooloka! Mu bukiikakkono ku lubalama lw'omugga Fulaati, beesitadde bagudde.” “Ani ono asituka nga Kiyira, ng'emigga egy'amazzi agaalaala? Misiri yasituka nga Kiyira, ng'emigga egy'amazzi agaalaala; Misiri yagamba nti, N'agolokoka, nabikka ku nsi zonna; ndizikiriza ebibuga n'abo ababituulamu. Mulumbe mmwe embalaasi, mutomere mmwe amagaali! Mmwe abalwanyi abazira mufulume, abasajja abe Kuusi ne Puti abakwata engabo; abasajja ab'e Luudi abakugu mu kunaanula omutego. Kubanga olunaku olwo, lunaku lwa Mukama, Mukama w'eggye, olunaku olw'okuwalanirako eggwanga, awalane eggwanga ku balabe be; n'ekitala kirirya ne kikkuta, era kirinywa ku musaayi gwabwe ne kikkuta, kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina ssaddaaka gy'asalira mu nsi ey'obukiikakkono ku lubalama lw'omugga Fulaati. Yambuka e Gireyaadi, otwale eddagala, ggwe omuwala wa Misiri atamanyi musajja! Onywera bwereere eddagala ery'engeri ennyingi; tewaliba kuwona gyoli. Amawanga gawulidde okuswala kwo, n'ensi ejjudde okukaaba kwo; kubanga omulwanyi, yeesittadde ku mulwanyi munne, era bagwiridde wamu bombi.” Ekigambo Mukama kye yagamba Yeremiya nnabbi ebikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni okulumba Misiri. “Mukibuulire mu Misiri, era mulangirire mu Migudooli, era mulangirire mu Noofu ne Tapanesi, nga mwogera nti, Fuluma oyimirire, weeteeketeeke; okwetaasa kubanga ekitala kiridde okwetooloola enjuyi zonna. Lwaki Apiisi adduse? Lwaki ennume eyo teyayimirira? Kubanga Mukama yaabasuula wansi. Abammwe bangi beesittadde ne bagwa, era buli omu n'agamba munne nti, ‘Situka tuddeyo eri abantu ab'ewaffe ne mu nsi gye twazaalirwamu, tuwone ekitala ky'omujoozi.’ Yita Falaawo kabaka w'e Misiri, erinnya nti, ‘Luyoogaano buyoogaano; Eyasubwa omukisa gwe.’ Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye, mazima nga Taboli bwali mu nsozi, era nga Kalumeeri ku lubalama lw'ennyanja, bw'alijja bw'atyo. Mmwe abantu b'e Misiri, mweesibirire okugenda mu busibe: kubanga Noofu kirifuuka matongo, era eddungu omutabeera bantu. Misiri nte nduusi nnungi nnyo; naye erumiddwa ekivu ekivudde mu bukiikakkono. N'abalwanyi be abapangise abali wakati we bali ng'ennyana ez'omu kisibo; kubanga nabo bazze emabega, baddukidde wamu, tebaayimirira; kubanga olunaku olw'okulabiramu obuyinike bwabwe lubatuuseeko, kye kiseera eky'okubonerezebwa kwabwe. Avaamu eddoboozi ng'ery'omusota ogudduka; kubanga abalabe be batambula n'amaanyi, ne bamutabaala nga balina embazzi, ng'abo abatema emiti. Balitema ekibira kye, bw'ayogera Mukama, newakubadde nga kikwafu nnyo, kubanga basinga enzige obungi, so tebabalika. Omuwala wa Misiri alikwatibwa ensonyi; aliweebwayo mu mukono gw'abantu ab'omu bukiikakkono.” Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, ayogera nti, “Laba, ndibonereza Amoni ow'e No, ne Falaawo, ne Misiri ne bakatonda be ne bakabaka be; Falaawo n'abo abamwesiga, era ndibagabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, ne mu mukono gw'abaddu be. Oluvannyuma, Misiri erituulwamu abantu, nga bwe kyali mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama. “Naye totya ggwe, Yakobo omuddu wange, so tokeŋŋentererwa, ggwe Isiraeri; kubanga, laba, ndikulokola nga nsinziira wala, era n'ezzadde lyo okuva mu nsi ey'obusibe bwabwe; kale Yakobo alikomawo mu nsi ye, era alibeera mirembe, nga ali bulungi, so tewaliba amutiisa. Totya ggwe, ayi Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; kubanga nze ndi wamu naawe; ndizikiriza amawanga gonna gye nnakugobera, naye ggwe sirikumalirawo ddala; naye ndikukangavvula mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.” Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi, ekikwata ku Bafirisuuti, Falaawo nga tannakuba Gaza. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Laba, amazzi gatumbiira agava obukiikakkono, era galifuuka mugga ogwanjaala, era galyanjaala ku nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu; n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi balikungubaga. Olw'omusinde gw'ebinuulo by'embalaasi, n'okuwulukuka kw'amagaali ge, n'okuvuuma kwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebaava balema okutunula emabega eri abaana baabwe, olw'okuba emikono gyabwe gifuuse minafu; olw'olunaku olujja okuzikiriza Abafirisuuti, n'okusala ku Ttuulo ne Sidoni buli muyambi asigaddewo; kubanga Mukama alizikiriza Abafirisuuti, abasigaddewo ku kizinga Kafutooli. Abantu be Gaza bamweddeko enviiri zaabwe olw'okukungubaga; Asukulooni amaliddwawo. Mmwe ekitundu ekifisseewo ab'omu kiwonvu mulituusa wa okwesala? Ayi ggwe ekitala kya Mukama! Olituusa wa obutatereera? Ddayo mu kiraato kyo, wummula osirike. Naye kinaawummula kitya nga Mukama akiragidde okukola! Okulumba Asukulooni era n'olubalama lw'ennyanja.” Ebikwata ku Mowaabu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, “Zisanze Nebo! Kubanga kizikiriziddwa; Kiriyasayimu kikwasibbwa ensonyi, kimenyeddwa; ekigo kyakyo kikwasibbwa ensonyi, era kisuliddwa. Ettendo lya Mowaabu terikyaliwo. Mu Kesuboni mwe bakiteesereza obubi, ‘Mujje tukimalewo kireme okuba eggwanga!’ Era naawe Madumeni, ayi olisirisibwa; ekitala kirikucocca. Wulira! okukaaba okuva e Kolonayimu, ‘Okunyaga n'okuzikiriza okunene!’ Mowaabu azikiridde; okukaaba kuwuliddwa okutuukira ddala e Zowaali. Kubanga awayambukirwa e Lukisi, bagenda nga bakaaba amaziga; kuba awaserengeterwa e Kolonayimu bawulidde okukaaba okw'okuzikirira. Mudduke! muwonye obulamu bwammwe, mufaanane ng'endogoyi ey'omunsiko mu ddungu. Kubanga olw'okwesiga emirimu gyo n'eby'obugagga bwo, ogenda kutwalibwa; ne Kemosi alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be. Omuzikiriza alituuka mu buli kibuga, so tewaliba kibuga ekiriwona; era ekiwonvu kirisanyizibwawo n'olusenyi lulizikirizibwa; nga Mukama bwe yayogera. Mumuwe Mowaabu ebiwaawaatiro alyoke abuuke agende; ebibuga bye birifuuka amatongo nga tewali atuulamu. Akolimiddwa oyo akola omulimu gwa Mukama ng'atenguwa, era akolimiddwa oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi. Mowaabu bulijjo abadde mu mirembe, tebatwalibwangako mu busibe. Balinga omwenge gwe batasengezze ebbonda lyagwo, nga teguttululwa kuva mu kita okudda mu kirala, obuwoomi bwagwo ne butayonooneka n'akatono, n'akawoowo kagwo, ne kasigala nga kalungi. Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe nditumira abo abattulula, kale balimuttulula, era balimalamu ebintu bye, ne bamenyamenya ensuwa ze. Kale Mowaabu alikwatirwa Kemosi ensonyi, ng'ennyumba ya Isiraeri bwe baakwatirwa Beseri ensonyi, gwe baali beesiga.” Mwogera mutya nti, “Tuli basajja ba maanyi era abazira mu kulwana? Omuzikiriza wa Mowaabu n'ebibuga bye, azze, era n'abalenzi be abalonde baserengese okuttibwa, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye. Obuyinike bwa Mowaabu bunaatera okutuuka, n'ennaku ze zanguwa mangu. Mumukungubagire mmwe mwenna abamwetoolodde, nammwe mwenna abamanyi erinnya lye; mwogere nti, ‘Omuggo ogw'amaanyi nga gumenyese, oluga olulungi!’ Serengeta ove mu kitiibwa kyo, era otuule mu nfuufu gwe atuula mu Diboni! Kubanga omuzikiriza wa Mowaabu atuuse, azikirizza ebigo byo eby'amaanyi. Yimirira ku mabbali g'ekkubo okette, gwe abeera mu Aloweri! Buuza omusajja adduka, era n'omukazi awona, oyogere nti, ‘Kiki ekiguddewo?’ Mowaabu akwasibbwa ensonyi; kubanga kimenyesemenyese; wowoggana okaabe! Mukibuulire mu Alunoni, nti, Mowaabu ezikiriziddwa. Omusango gumaze okusalirwa ebibuga by'omu museetwe: Koloni, Yaza, ne Mefaasi; Diboni, Nebo ne Besudibulasayimu; Kiriyasayimu, Besugamuli ne Besumyoni; Keriyoosi ne Bozula ne bibuga byonna eby'omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n'ebiri okumpi. Amaanyi ga Mowaabu gamenyese, obuyinza bwayo buzikiridde, bw'ayogera Mukama.” “Mutamiize; kubanga yeegulumiriza ku Mukama; olwo Mowaabu alyoke yekulukuunye mu bisesemye bye, era naye alisekererwa. Isiraeri teyali wa kusekererwa gyoli? Yaasangibwa babbi? Era nga buli lw'omwogerako omunyenyeza omutwe?” Muve mu bibuga, mutuule mu mayinja; mmwe abatuula mu Mowaabu! mufaanane kaamukuukulu akola ekisu kye mu njatika z'amayinja. Tuwulidde eby'amalala ga Mowaabu nga wa malala mangi nnyo; okwegulumiza kwe n'amalala ge n'ekitigi kye n'essukuti ery'omutima gwe. Mmanyi obusungu bwe, bw'ayogera Mukama, okwenyumiririza kwe kwa bwereere; ebikolwa bye temuli nsa. Kyennaava nkungubagira Mowaabu; weewaawo n'akabira Mowaabu yenna, era abasajja ab'e Kirukeresi mbakabira. Okusinga ne Yazeri, nkukaabira gwe omuzabbibu ogw'e Sibuma! Amatabi go gaayita ku nnyanja, ne gaatuukira ddala e Yazeri; naye omuzikiriza agudde ku bibala byo eby'omu kyeya ne ku bikungulwa byo. N'essanyu n'okujaguza biggyiddwa ku nnimiro engimu ne ku nsi ya Mowaabu; era mmazeemu omwenge mu masogolero, tewakyali asogola mwenge, ng'aleekaana; olw'essanyu. Ab'e Kesuboni ne Ereyale bakuba ebiwoobe ne biwulirwa okutuuka e Yakazi. Biwulirwa n'ab'e Zowaali era ne mu Kolonayimu, ne mu Egulasuserisiya; kubanga amazzi ag'e Nimulimu nago gakalidde. Era nate ndikomya mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama, oyo aweerayo ku kifo ekigulumivu n'oyo ayotereza bakatonda be obubaane. N'olw'ekyo omutima gwange gukungubagira Mowaabu ng'emirere gy'abasajja ab'e Kirukeresi, bw'ebutyo obugagga bwe bafuna buzikiridde. “ Kubanga buli mutwe gumwereddwa era n'abuli kirevu kimwereddwa; ku mikono gyonna kuliko emisale, era ne mu biwato mulimu ebibukutu. Ku ntikko ze nnyumba zonna eza Mowaabu, ne mu nguudo zaayo zonna waliwo okukungubaga; kubanga njasizza Mowaabu ng'ekibya ekitalina akifaako, bw'ayogera Mukama. Nga kimenyeddwa! Nga bakungubaga! Nga Mowaabu akyusizza enkoona n'ensonyi! Bw'atyo Mowaabu afuuse kusekererwa era ekitiisa eri abo bonna abamwetoolodde.” Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, alibuuka ng'empungu era alyanjuluza ebiwaawaatiro bye eri Mowaabu. Ebibuga biritwalibwa n'ebigo biriwambibwa. Omutima gw'abalwanyi ba Mowaabu guliba ku lunaku olwo, ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala. Era Mowaabu alizikirizibwa, obutaba ggwanga, kubanga yeegulumiriza ku Mukama. Entiisa n'obunnya n'ekyambika biri ku ggwe atuula mu Mowaabu! bw'ayogera Mukama. Adduka entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo ava mu bunnya alikwatibwa mu kyambika. Kubanga ndireeta ebintu bino ku Mowaabu mu mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe, bw'ayogera Mukama. Mu kisiikirize kye Kesuboni, abadduka bayimirira nga baweddemu amaanyi, kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, n'ennimi z'omuliro zivudde mu nnyumba ya Sikoni, era gwokezza ensonda za Mowaabu, n'engule y'abantu abasobeddwa. Zikusanze ggwe, Mowaabu! Abantu ba Kemosi bazikiridde; kubanga batabani bo batwalibbwa nga basibe, ne bawala bo batwalibbwa mu busibe. Naye ndikomyawo emikisa gya Mowaabu mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Mukama. Omusango gwa Mowaabu gukoma wano. Ebikwata ku baana ba Amoni, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Isiraeri talina baana ba bulenzi? Talina musika? Kale Malukamu kiki ekimwefuza Gaadi, ne batuula mu bibuga byayo? Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiwuliza eŋŋoma z'olutalo nga bazirayiza mu Labba, ekibuga eky'abaana ba Amoni; era kirifuuka kifunvu ekyalekebwawo, n'ebyalo byakyo biryokebwa omuliro: kale Isiraeri alifuga abo abaamufuganga. Kuba ebiwoobe ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kinyagiddwa; mukaabe, mmwe abawala ba Labba, mwesibe ebibukutu, mukungubage, mudduke nga mubuna emiwabo mu bisaakaate; kubanga Malukamu aligenda mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be. Lwaki mwenyumiriza olw'ebiwonvu byo ebikulukuta, ggwe omuwala atali mwesigwa eyeesiganga eby'obugagga bwe ng'ayogera nti, ‘Ani anaatulumba?’ Laba, ndikuleetako entiisa, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye, okuva eri abo bonna abakwetoolodde; era muligobebwamu buli muntu aliviiramu ddala, so tewaliba akuŋŋaanya abo abadduka. Naye oluvannyuma ndizzaawo emikisa gy'abaana ba Amoni, bw'ayogera Mukama.” Ebikwata ku Edomu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Amagezi tegakyali mu Temani? Abakalabakalaba tebakyamanyi kuteesa? Amagezi gaabwe gagenze? Mudduke, mukyuke okudda emabega, mutuule mu buziba, mmwe abatuula mu Dedani! Kubanga ndimuleetako obuyinike bwa Esawu, ekiseera kyendimubonererezaamu. Singa abanozi b'ezabbibu bazze gy'oli tebandinoze ne balekako ezimu? Singa ababbi bazze ekiro, tebandinyaze ebyo bye baagala? Naye nze nnyambudde Esawu ne muleka bwereere, mbikkudde ebifo bye bye yeekwekamu, era takyayinza kwekweka. Abaana be baazikiriziddwa, bwe batyo ne baganda be ne baliraanwa be, era naye takyaliwo. Leka abaana bo abatalina bakitaabwe, nze nja kubakuuma nga balamu; ne bannamwandu bo banneesige nze.” Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Oba nga abo abaali batagwanidde kunywa ku kikompe kya kubonerezebwa baakinywako, ggwe oligenda nga tobonerezeddwa? Toligenda nga tobonerezeddwa, ekikompe olikinywerako ddala. Kubanga nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, nti ekibuga Bozula kirifuuka ekyennyamiza, n'ekivume n'amatongo n'ekikolimo; n'ebibuga byayo byonna binaabanga matongo ga lubeerera.” Mpulidde ebigambo ebivudde eri Mukama, era n'omubaka atumiddwa mu mawanga, ng'ayogera nti, “Mwekuŋŋaanye mukitabaale, musituke mulwane!” Kubanga, laba, nkufudde mutono mu mawanga, era anyoomebwa mu bantu. Entiisa gyoyolesa ekulimbye, era n'amalala ag'omu mutima gwo, ggwe atuula mu njatika ez'omu lwazi, eyeekwata entikko y'olusozi. Naye ne bw'onoozimba ekisu kyo awagulumivu, okwenkana n'empungu, era ndikukkakkanya nga nkuwanulayo, bw'ayogera Mukama. Kale Edomu alifuuka kyewuunyo, buli anaayitangawo aneewuunyanga era anaasoozanga olw'ebibonoobono byayo byonna. Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebiriraanyeewo bwe byazikirizibwa, bw'ayogera Mukama, bw'etyo neyo tewali muntu alibeera eyo wadde omuntu alituula omwo. Laba ng'empologoma eva mu bibira bya Yoludaani, okulumba amalundiro g'endiga ag'amaanyi, bw'entyo mangu ago ndimuddusa okumuvaako; era ndironda gwe ndyagala mubo okubafuga. Kubanga ani afaanana nga nze? Ani ayinza okumpozesa? Omusumba aluwa ayinza okuyimirira mu maaso gange? Kale muwulire okuteesa, Mukama kw'ateesezza eri Edomu; n'ebyo by'amaliridde okukola ku abo abatuula mu Temani, mazima n'abaana abato ab'omu kisibo balikululibwa, mazima ekisibo kiryewuunya olw'ebyo ebikituuseeko. Olw'eddoboozi ery'okuggwa kwabwe ensi erikankana, eddoboozi ly'okukaaba kwabwe, liwulirwa ku Nnyanja Emmyufu. Laba, omu alirinnya n'abuuka ng'empungu n'ayanjuluza ebiwaawaatiro bye okulwanyisa Bozula, era omutima gw'abalwanyi ba Edomu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala. Ebikwata ku Ddamasiko. Kamasi ne Alupadi basobeddwa, kubanga bawulidde ebigambo ebibi; basaanuuka olw'okutya, batabuse ng'ennyanja eteyinza kuteeka. Ddamasiko ayongobedde, akyuka okudduka, n'okukankana kumukutte, obubalagaze n'obuyinike bimunywezezza ng'omukazi alumwa okuzaala. Engeri ekibuga ekimanyifu gy'ekirekeddwawo, ekibuga ekyalinga ekyessanyu! Abalenzi baakyo kyebaliva bagwira mu nguudo zaakyo, era abalwanyi be bonna balizikirizibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye. Era ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Ddamasiko, era gulyokya ebifo eby'amaanyi ebya Benukadaadi. Ebikwata ku Kedali n'eby'obwakabaka bwa Kazoli, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bwe yakuba. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti: “Musituke mulumbe Kedali! Muzikirize abantu ab'ebuvanjuba! Eweema zaabwe n'ebisibo byabwe biritwalibwa, entiimbe zaabwe n'ebintu byabwe byonna, eŋŋamira zaabwe tezikyabagasa, era abantu balibakabirira nti, ‘Entiisa ebali ku njuyi zonna.’ Mudduke, mutambuliretambulire wala, mwekweke wansi, mmwe ababeera mu Kazoli! bw'ayogera Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni abateeserezza ebigambo, era abasalidde amagezi. Musituke mujje tulumbe eggwanga eriri mu ddembe, eribeera nga likuumibwa; bw'ayogera Mukama, eritalina nzigi, wadde ebisiba, abatuula bokka. N'eŋŋamira zaabwe ziriba munyago, n'amagana gaabwe ag'ente ga kwegabanya. Ndisaasaanyiza eri buli mpewo abo abamwa ensonda z'enviiri zaabwe, era ndibaleetako obuyinike okuva ku njuyi zonna, bw'ayogera Mukama. Era Kazoli kinaabanga kifo kya bibe, era matongo ag'olubeerera; tewaabenga muntu alibeera eyo, so tewaabenga mwana wa alituula omwo.” Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi nga kikwata ku Eramu, Zeddekiya kabaka wa Yuda, bwe yali nga kyajje afuuke kabaka, nga kyogera nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, ensibuko y'amaanyi gaabwe. Era ndireeta ku Eramu empeewo ennya okuva mu bitundu ebina eby'eggulu; era ndibasaasaanyiza eri empeewo ezo zonna, era abo abagobebwa mu Eramu tewaliba ggwanga gye batalituuka. Era nditiisa Eramu mu maaso g'abalabe baabwe, ne mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe; era ndibaleetako obubi, obusungu bwange obungi, bw'ayogera Mukama; era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndibamalirawo ddala; era nditeeka nnamulondo yange mu Eramu, era ndizikiriza kabaka waabwe, n'abakungu baabwe,” bw'ayogera Mukama. “Naye mu nnaku ez'oluvannyuma, ndizzawo emikisa gya Eramu, bw'ayogera Mukama.” Ekigambo Mukama kye yayogera ekikwata ku Babbulooni, nga kifa ku nsi ey'Abakaludaaya ng'ayita mu Yeremiya nnabbi. “Mwatulire mu mawanga, era mulangirire, musimbe ebendera era mulangirire; so temukikisa, nga mwogere nti, ‘Babbulooni kimenyeddwa, Beeri akwatiddwa ensonyi, Merodaaki akeŋŋentereddwa; ebifaananyi byakyo bikwatiddwa ensonyi, ebibumbe byakyo bikeŋŋentereddwa.’ Kubanga mu bukiikakkono evuddeyo eggwanga okukitabaala, lirifuula ensi ye amatongo, era tewaliba akibeeramu, byombi abantu n'ensolo, balikiddukamu.” “Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda; balijjira wamu; nga bakaaba amaziga, era balinoonya Mukama Katonda waabwe. Balibuuza awali ekkubo erigenda e Sayuuni, n'amaaso gaabwe nga gaakitunulidde, nga boogera nti, ‘Mujje twegatte ne Mukama, mu ndagaano eteriggwaawo eteryerabirwa.’ ” “Abantu bange baabanga nga ndiga ezaabula, abasumba baabwe baabawabya, ne baabakyamiza ku nsozi, baavanga ku lusozi ne bagendanga ku kasozi, beerabidde ekisibo kyabwe. Bonna abaabasanga babalidde, era n'abalabe baabwe ne boogera nti, ‘Tetulina musango, kubanga bo be basobezza Mukama, ensibuko y'obutuukirivu, Mukama, essuubi lya bajjajjaabwe.’ Mudduke muve wakati mu Babbulooni, muve mu nsi ey'Abakaludaaya, mube ng'embuzi ennume mu maaso g'ebisibo. Kubanga, laba, nja kusiikuula era ndeete ku Babbulooni ekibinja ky'amawanga ag'amaanyi okuva mu bukiikakkono, era balisimba ennyiriri okulwana nakyo; okuva eyo kiritwalibwa, obusaale bwabwe bulinga omulwanyi omukugu ataddira awo.” Kale ensi y'Abakaludaaya erinyagibwa, era abo abaginyaga, balitwala buli kye baagala, bw'ayogera Mukama. “Newakubadde nga musanyuse, newakubadde nga mujaguza, mmwe abanyaga obusika bwange, newakubadde nga muligita ng'ente enduusi ewuula omuddo, ne mufugula ng'embalaasi ez'amaanyi; nnyammwe alikwatibwa ensonyi nnyingi nnyo; eyabazaala aliswala. Laba ye aliba ow'enkomerero mu mawanga, olukoola, ensi enkalu, ey'eddungu. Olw'obusungu bwa Mukama, kyeriva erema okutuulwamu, naye erirekerwawo ddala; buli anaayitanga ku Babbulooni, anaasamaaliriranga n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna. Musimbe ennyiriri okulwana ne Babbulooni enjuyi zonna, mmwe mwenna abanaanuula omutego; mukirase, temusaasira busaale, kubanga kyayonoona Mukama. Mukireekaanireko enjuyi zonna; kijeemulukuse; amakomera gaakyo gagudde, babbugwe baakyo basuuliddwa, kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana; mukiwalaneko eggwanga; nga bwe kyakolanga, nammwe mukikole bwe mutyo. Mumaleemu mu Babbulooni asiga ensigo, n'oyo akwata ekiwabyo mu biro eby'okukunguliramu; olw'ekitala ky'omujoozi, buli muntu alidda mu bantu b'ewaabwe, era baliddukira buli muntu mu nsi y'ewaabwe.” “Isiraeri ndiga ewabye; egobeddwa empologoma. Kabaka w'e Bwasuli ye yasooka okumukavvula; ate ne kaakano oluvannyuma Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni amenye amagumba ge. N'olw'ekyo bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, ‘Laba, ndibonereza kabaka w'e Babbulooni n'ensi ye nga bwe nnabonereza kabaka w'e Bwasuli. Era ndikomyawo Isiraeri nate mu ddundiro lye, era aliriira ku Kalumeeri ne Basani, n'emmeeme ye erikkutira ku nsozi za Efulayimu, ne mu Gireyaadi. Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya, naye nga tewali, n'ebibi bya Yuda, so tebirirabika, kubanga ndisonyiwa abo be ndireka okuba ekitundu ekifisseewo.’ ” “Tabaala ensi y'e Merasayimu, era n'abo abali mu Pekodi. Otte era ozikiririze ddala n'abali emabega waabwe, bw'ayogera Mukama, okole byonna bwe biri bye nnakulagira. Eddoboozi ery'entalo liri mu nsi, era n'ery'okuzikirira okunene. Ennyondo ey'ensi zonna ng'etemeddwa ng'emenyese! Babbulooni nga kifuuse ekitiisa mu mawanga! Nakutegera omutego, n'okukwatibwa okwatiddwa, ayi Babbulooni, so tewakimanya; olabise n'okukwatibwa okwatiddwa, kubanga wawakana ne Mukama. Mukama asumuludde etterekero ly'eby'okulwanyisa bye, era aggyeemu eby'okulwanyisa nga anyiize, kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina omulimu gw'agenda okukola mu nsi ey'Abakaludaaya. Mujje mukirumbe nga muva ku buli ludda, musumulule amawanika gaakyo; mukituume ng'abatuuma entuumu y'eŋŋaano, era mukizikiririze ddala, waleme okubaawo ekintu ekisigala ku kyo. Mutte ennume zaakyo zonna; muzireke ziserengete mu kuttibwa. Zizisanze! Kubanga olunaku lwazo lutuuse, olunaku olw'okubonerezebwako. Wulira! badduka era ne batoloka okuva mu nsi y'e Babbulooni, okulangirira mu Sayuuni eggwanga Mukama Katonda waffe ly'aliwalana, ly'aliwalana olwa Yeekaalu ye. Muyite abalasi bakuŋŋaane balumbe Babbulooni, abo bonna abanaanuula omutego, musiisire okukyetooloola enjuyi zonna; waleme okuba n'omu aliwona mu kyo. Mwesasuze ng'omulimu gwakyo bwe gwali; era mukikole nga byonna bwe biri bye kyakolanga, bwe mutyo bwe mukikolanga, kubanga kyeyisa n'amalala eri Mukama, eri Omutukuvu owa Isiraeri. Abavubuka baakyo kyebaliva battirwa mu nguudo zaakyo, n'abasajja baakyo bonna abalwanyi balizikirizibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama. Laba, ndi mulabe wo, ayi ggwe alina amalala, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye; kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera mwe nnaakubonerereza. Alina amalala alyesittala n'agwa, so tewaliba alimuyimusa; era ndikuma omuliro mu bibuga bye, era gulyokya bonna abamwetoolodde.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda banyigirizibwa, n'abo bonna abaabatwala okuba abasibe babanywezezza, baganyi okubata. Omununuzi waabwe wa maanyi; Mukama w'eggye lye linnya lye. Ye aliwoleza ddala ensonga yaabwe, alyoke awummuze ensi, era yeeraliikirize abo abali mu Babbulooni. Ekitala kiri ku Bakaludaaya, bw'ayogera Mukama, ne ku abo bonna abali mu Babbulooni ne ku bakungu baamu, ne ku bagezigezi baamu. Ekitala kiri ku balaguzi baalyoke basiruwale! Ekitala kiri ku balwanyi baakyo baalyoke bazikirizibwe! Ekitala kiri ku mbalaasi zaabwe, ne ku magaali gaabwe, ne ku balwanyi bonna abapangise abali wakati mu kyo, baalyoke baafuke ng'abakazi! Ekitala kiri ku bintu byamu eby'obugagga, era birinyagibwa! Ekyanda kikaliza amazzi gaamu, era galikalira! Kubanga nsi ya bifaananyi ebyole, era bibalalusizza. Ensolo ez'omu nsiko kyezinaavanga zibeera n'empisi mu Babbulooni, era ne bamaaya banaabeeranga omwo; so tekiibeerengamu nate bantu ennaku zonna; so tekiituulwengamu emirembe n'emirembe. Nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bw'ayogera Mukama; bwe kityo tewaabenga muntu anaatuulanga eyo, so tewaabenga mwana wa muntu anaabeeranga omwo. Laba, eggwanga liva e bukiikakkono; era ekika ekikulu, era bakabaka beetabula okuva ku njuyi z'ensi ezikomererayo. Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng'ennyanja, era beebagala embalaasi; nga baasimbye ennyiriri ng'omusajja bweyetegeekera okulwana naawe, ggwe Babbulooni. Kabaka w'e Babbulooni awulidde ettutumu lyabwe, emikono gye ne giddirira, obubalagaze bumukutte n'obulumi ng'omukazi alumwa okuzaala. Laba ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu ebya Yoludaani, n'erumba amalundiro g'endiga ag'amaanyi, bwe ntyo ndikibaddusamu mangu ago, era ndironda gwe ndyagala okubafuga. Kubanga ani afaanana nze? Ani ayinza okumpozesa? Omusumba aluwa ayinza okuyimirira mu maaso gange? Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateeseza ku Babbulooni; n'ebyo by'amaliridde okukola ensi ey'Abakaludaaya. Mazima n'abaana abato ab'omu kisibo balikululibwa; mazima ekisibo kiryewuunya olw'ebyo ebikituuseeko. Olw'eddoboozi ery'okuwamba Babbulooni ettaka likankana, n'okukaaba kwe kuwuliddwa mu mawanga.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Laba, ndisikuula omwoyo gw'omuzikiriza ku Babbulooni, ne ku batuula mu Bakaludaaya. Era ndisindika e Babbulooni bannamawanga ne bakizikiriza, n'ensi ye baligikaliza, bwe baligirumba okuva ku njuyi zonna, ku lunaku olw'okulabiramu ennaku. Temuleka mulasi kunaanula mutego gwe, era temumuleka kuyimirira ng'ayambadde ekizibawo kye eky'ebyuma. Temusonyiwa balenzi baamu, muzikiririze ddala eggye lyamu lyonna. Era baligwira mu nsi ey'Abakaludaaya nga battiddwa, era nga bafumitiddwa mu nguudo zaakyo. Kubanga Isiraeri ne Yuda talekeddwayo Katonda we, Mukama w'eggye, naye ensi y'Abakaludaaya ejjudde omusango gwe bazza eri Omutukuvu wa Isiraeri. Mudduke muve mu Babbulooni wakati, buli muntu awonye obulamu bwe! Muleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo, alikisasula empeera ekigwanira. Babbulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama, ekyatamiizanga ensi zonna; amawanga gaanywa ku mwenge gwakyo; bwe gatyo amawanga ago ne galaluka. Babbulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde; Mukikungubagire! Mukifunire eddagala olw'obulumi bwakyo, oba mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa. Twandiwonyezza Babbulooni, naye tekiwonye. Mukireke tudde buli muntu mu nsi y'ewaabwe; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bire. Mukama ayolesezza obutuukirivu bwaffe; mujje tulangirire mu Sayuuni omulimu gwa Mukama Katonda waffe. Muwagale obusaale! Musitule engabo! Mukama asiikudde emmeeme za bakabaka b'Abameedi, kubanga okuteesa kwe okukwata ku Babbulooni ku kizikiriza, kuba eryo lye ggwanga Mukama ly'awalana, ly'awalana olwa Yeekaalu ye. Musimbe ebendera okwolekera bbugwe w'e Babbulooni, munyweze abakuumi, muteekeewo abakuuma, mutegeke abateezi; kubanga Mukama ateesezza n'okukola akoze ebyo bye yayogera ku abo abali mu Babbulooni. Ayi ggwe atuula ku mazzi amangi, alina eby'obugagga ebingi ennyo nnyini, enkomerero yo etuuse, akawuzi k'obulamu bwo kakutuddwa. Mukama w'eggye yeerayidde yekka ng'ayogera nti, Mazima ndikujjuza abasajja bangi nga bulusejjera, era balikukuba olwogoolo, nga bawangudde.” “Mukama yakola ensi n'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n'amagezi ge, era yabamba eggulu n'okutegeera kwe. Bwafulumya eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa olufu okuva ku nkomerero z'ensi; aleeta okumyansa mu nkuba ng'etonya, era aggya embuyaga mu mawanika ge. Buli muntu musiru era talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ebifaananyi bye ebyole byaweesa bimukwasa ensonyi; kubanga ebifaananyi ebyo bulimba, so mu byo temuli mukka. Byonna birerya, mulimu gwa bulimba; mu kiseera kyabyo eky'okubonerezebwa birizikirizibwa. Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo, kubanga oyo ye yakola ebintu byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe; Mukama w'eggye lye linnya lye.” “Ggwe nnyondo yange era eky'okulwanyisa eky'olutalo; era ggwe ndimenyesamenyesa amawanga; era ggwe ndizikirizisa obwakabaka; era ggwe ndimenyesamenyesa embalaasi n'oyo agyebagadde; era ggwe ndimenyesamenyesa ekigaali n'oyo akitambuliramu; era ggwe ndimenyesamenyesa omusajja n'omukazi; era ggwe ndimenyesamenyesa omukadde n'omuvubuka; era ggwe ndimenyesamenyesa omulenzi n'omuwala; era ggwe ndimenyesamenyesa omusumba n'ekisibo kye; era ggwe ndimenyesamenyesa omulimi ne bakola nabo; era ggwe ndimenyesamenyesa abafuzi n'abaduumizi b'eggye. Era ndisasula Babbulooni n'abo bonna abali mu Bakaludaaya olw'obubi bwabwe bwonna bwe baakakola mu Sayuuni mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama.” “Laba, ndi mulabe wo, ayi olusozi oluzikiriza, bw'ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna; era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya. So tebalikuggyako jjinja okuba ery'oku nsonda, newakubadde ejjinja ery'omusingi; naye onoobanga matongo emirembe gyonna, bw'ayogera Mukama. Muwanike ebendera mu nsi, mufuuwe ekkondeere mu mawanga, mutegeke amawanga okulwana nakyo, muyite obwakabaka obwa Alalati, Mini, ne Asukenaazi, okukikuŋŋaanirako, mulonde omugabe anaaduumira; muleete embalaasi ennyingi ng'ebibinja by'enzige. Mutegeke amawanga okulwana nakyo, bakabaka b'Abameedi, abaamasaza baamu, n'abasigire baamu bonna, n'ensi zonna ze baatwala. Ensi ekankana era yeetoloolera mu bulumi, kubanga ebyo Mukama bye yamalirira okukola Babbulooni, ajja kubituukiriza, okufuula ensi y'e Babbulooni amatongo, nga tewali agibeeramu. Abalwanyi ab'e Babbulooni baleseeyo okulwana, basigadde mu bigo byabwe ebigumu; amaanyi gaabwe gaweddewo; bafuuse ng'abakazi; ennyumba zaakyo zookeddwa omuliro, ebisiba byakyo bimenyese. Omubaka omu adduka okusisinkana ne munne, era n'omubaka omu asisinkana omulala, okutegeeza kabaka w'e Babbulooni ng'ekibuga kye bwe kimenyeddwa enjuyi zonna; awasomokerwa wawambiddwa, era ebigo ebigumu babikumyeko omuliro, n'abalwanyi bali mukutya.” “Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Abantu be Babbulooni baliŋŋaanga egguuliro, mu biseera mwe balisambiriramu, so nga mu kiseera kitono ebiro eby'okukunguliramu bituuke. Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, andidde, ambetense, anfudde ekibya ekyereere, ammize ng'ogusota, ajjuzizza olubuto lwe n'eby'okulya byange ebirungi; ankamudde. Obukambwe obwankolwako n'abantu bange bubeere ku Babbulooni, Abatuula mu Sayuuni boogera nti, ‘Omusaayi gwange gubeere ku abo abali mu Bakaludaaya,’ bw'atyo Yerusaalemi bw'alyogera.” “N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndiwoza ensonga yo, ne nkuwalanira eggwanga. Ndikaliza ennyanja yaakyo, ndifuula ensulo zaakyo ez'amazzi enkalu. Kale Babbulooni kirifuuka ntuumu ya bifunfugu, ekifo eky'ebibe eky'okubeeramu, ekitiisa, n'okusoozebwa, nga tewali akibeeramu. Baliwulugumira wamu ng'empologoma; era balivuuma ng'empologoma ento. Bwe balibuguumirira, ndibafumbira embaga, era ndibatamiiza, okutuusa lwe balizirika, era ne beebaka otulo obutaddayo kuzuukuka, bw'ayogera Mukama. Ndibaserengesa ng'abaana b'endiga okuttibwa, ng'endiga ennume wamu n'embuzi ennume. ’ ” “Babbulooni nga kimenyeddwa! Ettendo ery'ensi zonna liwambiddwa! Babbulooni nga kifuuse ekitiisa mu mawanga! Ennyanja ekulumulukukidde ku Babbulooni, amayengo gaayo ag'amaanyi, gakibisseeko. Ebibuga byakyo bifuuse ebitiisa, ensi ey'ekyeya n'eddungu, ensi omutali muntu agibeeramu, era omutali muntu agiyitamu. Era ndibonereza Beeri, katonda we Babbulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira. Amawanga galiba tegakyaddamu kumusinza; bbugwe w'e Babbulooni agudde.” “Muve wakati mu kyo, mmwe abantu bange! Buli muntu awonye obulamu bwe okuva mu busungu obukambwe obwa Mukama! Omutima gwammwe guleme okuzirika, era muleme okutya olw'ebyo ebiwulirwa mu nsi, bwe munabiwulira mu mwaka ogumu, oluvannyuma mulibiwulira mu mwaka omulala, era obukambwe buli mu nsi, nga omufuzi omu alwana n'omulala. Kale, laba, ennaku zijja, lwe ndibonereza ebifaananyi eby'e Babbulooni, ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n'abaayo bonna abattiddwa baligwa wakati mu kyo. Kale eggulu n'ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n'essanyu olwa Babbulooni; kubanga abazikiriza balijja okubalumba nga bava mu bukiikakkono, bw'ayogera Mukama. Babbulooni ateekwa okugwa olw'Abaisraeri abattibwa, bwe kityo e Babbulooni ab'ensi yonna abattiddwa gye baligwira.” “Mmwe abawonye ekitala, mugende, temuyimirira buyimirizi! Mujjukire Mukama nga musinziira wala, era muleke Yerusaalemi kijje mu mitima gyammwe. Tuswazibbwa, kubanga tuwulidde okuvumibwa; okunyoomebwa kubisse amaaso gaffe, kubanga bannamawanga bayingidde mu bifo ebitukuvu eby'omu nnyumba ya Mukama. Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, bwe ndimusalira omusango olw'ebifaananyi bye, era okuyita mu nsi ye yonna abaliko ebiwundu balisinda. Newakubadde Babbulooni alirinnya okutuuka mu ggulu, era newakubadde yeezimbira ebigo bye ebigumu, naye abazikiriza baliva gyendi ne bamulumba, bw'ayogera Mukama.” “Muwulire! Okukaaba okuva mu Babbulooni! Eddoboozi ery'okuzikirira okunene okuva mu nsi ey'Abakaludaaya! Kubanga Mukama afuula Babbulooni ekitagasa, era asirissa eddoboozi lye ery'amaanyi. Amayengo gaabwe gawuuma nga ag'amazzi amangi, era okuleekaana kw'eddoboozi lyabwe kulinyisiddwa; kubanga omuzikiriza amutuuseeko, atuuse ku Babbulooni; abalwanyi be bawambiddwa, emitego gyabwe gimenyesemenyese; kubanga Mukama ye Katonda asasula, talirema kukuwa mpeera. Era nditamiiza abakungu baamu n'abagezigezi baamu, abaamasaza baamu n'abasigire baamu n'abalwanyi be; era balyebaka otulo otw'olubeerera, so tebalizuukuka, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Ekisenge kye ekigazi kiriseetezebwa ku ttaka, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro. Abantu bateganira bwereere, n'amawanga geekoyeza bwereere, omuliro gulizikiriza byonna bye gakola.” Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya, Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda ne Zeddekiya kabaka wa Yuda e Babbulooni, mu mwaka ogwokuna ogw'okufuga kwe. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu. Awo Yeremiya n'awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okutuuka ku Babbulooni, ebigambo bino byonna biwandiikiddwa nga bikwata ku Babbulooni. Awo Yeremiya n'agamba Seraya nti, Bw'olituuka mu Babbulooni, olabanga ng'osoma mu lwatu ebigambo bino byonna, oyogere nti, Ayi Mukama, wayogera ebikwata ku kifo kino nti olikizikiriza, obutabaamu akibeeramu, omuntu newakubadde ensolo, naye kibeere matongo ennaku zonna. Awo olulituuka bw'olimala okusoma ekitabo kino, n'olyoka okisibako ejjinja n'okisuula mu mugga Fulaati wakati: era olyogera nti, Babbulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw'obubi bwe ndikireetako. Okutuuka wano by'ebigambo bya Yeremiya. Zeddekiya yalina emyaka abiri mu gumu (21) bwe yatandika okufuga obwakabaka bwa Yuda; n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. Zeddekiya nnakola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yali akoze. Mazima olw'obusungu bwa Mukama, ebigambo n'ebituukirira ku Yerusaalemi ne Yuda, bw'atyo n'abagoba mu maaso ge, era ne Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babbulooni. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda ogw'okufuga kwe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okutabaala Yerusaalemi n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna. Awo ekibuga n'ekizingizibwa okutuuka ku mwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa kabaka Zeddekiya. Mu mwezi ogwokuna ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi, enjala n'eba nnyingi mu kibuga, ne watabaawo mmere, eri abantu ab'omu nsi. Awo ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga, abasajja bonna abalwanyi ne badduka ne bafuluma mu kibuga ekiro mu kkubo ery'omulyango wakati w'ebisenge ebibiri, ogwaliraana olusuku lwa kabaka; bo Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Abalwanyi ba kabaka Zeddekiya ne badduka nga bayita mu kkubo erya Alaba. Naye eggye ery'Abakaludaaya ne liwondera Kabaka, Zeddekiya ne limuyisiriza mu nsenyi ez'e Yeriko; eggye lye lyonna ne lisaasaana okumuvaako. Awo ne bawamba kabaka, ne bamutwala eri kabaka w'e Babbulooni e Libula mu kitundu ky'e Kamasi; n'amusalira omusango. Awo kabaka w'e Babbulooni, n'atta batabani ba Zeddekiya, nga Zeddekiya yennyini alaba, era n'attira awo e Libula abakungu bonna aba Yuda. Kabaka w'e Babbulooni, n'atungulamu Zeddekiya amaaso; n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babbulooni, n'amuteeka mu kkomera okutuusiza ddala ku lunaku lwe yafiirako. Awo mu mwezi ogwokutaano, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda nga Nebukadduneeza ye kabaka w'e Babbulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, eyaweerezanga kabaka w'e Babbulooni, n'ayingira mu Yerusaalemi; n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemi, buli nnyumba yonna ennene yagyokya omuliro. N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali awamu n'omukulu w'abambowa ne bamenya ebisenge byonna, okwetooloola Yerusaalemi enjuyi zonna. Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, n'atwala e Babbulooni nga basibe abamu ku bantu abasinga obwavu, n'abo abaali basenguse ne baasenga kabaka w'e Babbulooni, n'ekitundu ekyali kisigaddewo eky'abakozi b'emirimu egy'emikono. Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, n'aleka abamu ku abo abasinga obwavu mu nsi okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga. N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe, n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama, Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala ebikomo byonna e Babbulooni. Era ne batwala n'entamu n'ebitiiyo ebiyoola evvu, n'ebijiiko, n'ebibya omwanyookerezebwanga obubaane, n'ebintu byonna eby'ebikomo, ebyakozesebwanga okuweerezanga, mu nnyumba ya Mukama nabyo ne babitwala. Ne batwala ne bikompe n'emmumbiro n'ebibya n'entamu n'ebikondo n'ebijiiko n'obubya; ebyali ebya zaabu, mu zaabu, n'ebyo ebyali ebya ffeeza, mu ffeeza, bwatyo omukulu w'abambowa bwe yabitwala. Empagi zombi, ennyanja emu, n'ente ennume ez'ebikomo ekkumi n'ebbiri (12) ezaali wansi w'ennyanja, era n'ebikondo, ebyo kabaka Sulemani bye yali akoze olw'ennyumba ya Mukama, obuzito bw'ekikomo obw'ebintu bino byonna bwali tebupimika. Zo empagi, obuwanvu bw'empagi emu bwali emikono kkumi na munaana (18); n'okugyetooloola emikono kkumi n'ebiri (12); n'obugazi bwayo bwali engalo nnya, nga zirimu omutuli. Ku mpagi kwaliko omutwe ogw'ekikomo; n'omutwe ogumu obuwanvu bwagwo emikono etaano, omutwe nga guliko ebitimba n'amakomamawanga enjuyi zonna, byonna bya bikomo, n'empagi eyokubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n'amakomamawanga. Era mu mbiriizi za buli mpagi, kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga (96); amakomamawanga gonna gaali kikumi (100) agatimbye buli mpagi okugyetoolooza. Awo omukulu w'abambowa n'atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu; era n'aggya mu kibuga omukungu eyali aduumira abasajja abalwanyi; n'abasajja musanvu ku abo abaawanga kabaka amagezi, abaali bakyali mu kibuga; n'omuwandiisi ow'omukulu w'eggye, eyawandiikanga abantu mu ggye; n'abasajja nkaaga (60) ab'oku bantu ab'omu nsi abaasangibwa wakati mu kibuga. Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwala bonna eri kabaka w'e Babbulooni e Libula. Kabaka w'e Babbulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu kitundu kye Kamasi. Awo Yuda, n'atwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye. Guno gwe muwendo gw'abantu Nebukadduneeza be yatwala mu busibe, mu mwaka gwe ogw'omusanvu nga ye kabaka, yatwala Abayudaaya enkumi ssatu mu abiri mu basatu (3,023). Mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'ekkumi n'omunaana, nga ye kabaka, n'atwala abantu lunaana mu asatu mu babiri (832) nga basibe okubaggya e Yerusaalemi; mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'abiri mu esatu (23), Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala ku Bayudaaya, abantu lusanvu mu ana mu bataano (745), nga basibe; abantu bonna abatwalibwa baali enkumi nnya mu lukaaga (4,600). Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu mu omusanvu (37) ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini, kabaka wa Yuda, mu mwezi ogwe kkumi n'ebiri (12) ku lunaku olw'abiri mu etaano (25); Evirumerodaaki kabaka w'e Babbulooni, mu mwaka ogwo gwe yafuukiramu kabaka, nnaakwatirwa Yekoyakini kabaka wa Yuda ekisa, n'amuggya mu kkomera. Evirumerodaaki n'alaga Yekoyakini ekisa, era n'amuwa ekifo eky'ekitiibwa okusinga ekya bakabaka abalala abaali awamu naye nga basibe mu Babbulooni. Bw'atyo Yekoyakini n'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera, n'aliiranga emmere bulijjo ku lujjuliro lwa kabaka ennaku zonna ez'obulamu bwe. Era ku by'okumulabiriranga kabaka w'e Babbulooni n'awa kabaka Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku kw'ebyo bye yeetaaga, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu, okutuusa ku lunaku lwe yafiirako. Ekibuga nga kitudde kyokka ekyajjulanga abantu! Nga kifuuse okuba nga nnamwandu, Ekyabanga omukulu mu mawanga! Ekyali omumbejja mu bibuga, Kifuuse twale. Kikaaba nnyo nnyini ekiro, n'amaziga, gali ku matama gaakyo; Mu baganzi baakyo bonna tewali n'omu wa ku kisanyusa; Mikwano gyakyo gyonna bakiriddemu olukwe, Bafuuse balabe baakyo. Yuda agenze mu busibe, olw'okubonyaabonyezebwa n'olw'obuddu obuzito; Kaakano abeera mu mawanga, naye talaba kiwummulo. Abamugoba bonna bamuyisizza wakati mu bulumi bwe. Amakubo ga Sayuuni gakaaba, kubanga tewali n'omu ajja ku mbaga ezaateekebwawo; Emiryango gye gyonna girekeddwawo, bakabona be basinda. Bawala be bawaluddwa ne bagyibwawo, naye yennyini abonaabona nnyo. Abalabe be bafuuse omutwe, abamukyawa balabye omukisa; Kubanga Mukama amubonyabonyezza olw'olufulube lw'ebyonoono bye; Abaana be abato bagenze mu kusibibwa mu maaso g'omulabe. Era omuwala wa Sayuuni afiiriddwa obukulu bwe bwonna. Abakungu be bafuuse ng'ennangaazi ezitalaba muddo, Era ezidduka nga tezirina maanyi mu maaso g'oyo azigoba. Yerusaalemi ajjukirira mu nnaku ez'okulabiramu ennaku n'obuyinike, Ebintu bye byonna ebisanyusa ebyabangawo okuva mu nnaku ez'edda. Abantu be bwe baagwa mu mukono gw'omulabe, so nga tewali amuyamba, Abalabe bamulaba ne bakudaalira okugwa kwe. Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, kyavudde afuuka ng'ekintu ekitali kirongoofu. Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyoomye, kubanga balabye ensonyi ze. Weewaawo, ye kennyini asinda, era n'akyusa amaaso ge n'agatunuza eri. Empitambi ye yali mu birenge bye; teyalowooza ku kuzikirira kwe; Kyavudde akkakkanyirizibwa ddala; talina amusanyusa. Ayi Mukama, tunuulira okubonyaabonyezebwa kwange; kubanga omulabe yeegulumizizza. Omulabe agolodde omukono gwe, ku bintu bye byonna eby'obugagga. Kubanga alabye nga amawanga bayingidde mu kifo kye ekitukuvu. Abo beewagaana okuyingiranga mu kibiina kyo. Abantu be bonna bassa ebikkowe, nga banoonya emmere; Bawaddeyo ebintu byabwe eby'obugagga, okugula emmere okuweezaweeza emmeeme yaabwe. “Tunula ayi Mukama, olabe; kubanga nfuuse ataliiko ky'agasa.” “Temufaayo, mmwe mwenna abayitawo?” Mutunule mulabe oba nga waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange obukoleddwa nze, Mukama bw'ambonyabonyezezza ku lunaku olw'ekiruyi kye. Yaweereza omuliro mu magumba gange ng'asinziira waggulu, ne gugawangula. Ategedde ebigere byange ekitimba, anzizizza emabega, Andeeseeko okuwuubaala n'okuzirika n'okuyongobera okuzibya obudde. Ekikoligo ky'ebyonoono byange, omukono gwe gukisibye; byezinzezinze, birinnye ku nsingo yange; amazeewo amaanyi gange, Mukama angabudde mu mikono gy'abo be siyinza kuyimirira mu maaso gaabwe. Mukama anyoomye abasajja bange bonna ab'amaanyi abali wakati mu nze; Ankuŋŋaanyirizzaako okukuŋŋaana okutukuvu okubetenta abavubuka bange; Mukama asambye omuwala wa Yuda atamanyi musajja nga asamba emizabbibu mu ssogolero. Olw'ebyo kyenvudde nkaaba amaziga; eriiso lyange, eriiso lyange likulukuta amazzi; Kubanga omukubagiza eyandisanyusizza emmeeme yange andi wala; Abaana bange balekeddwawo, kubanga omulabe awangudde. Sayuuni ayanjuluzza emikono gye; naye tewali amukubagiza; Mukama alagidde ebya Yakobo nti baliraanwa be babeere abalabe be; Yerusaalemi ali mu bo ng'ekintu ekitali kirongoofu. Mukama mutuukirivu; kubanga njeemedde ekiragiro kye; Muwulire, mbeegayiridde, mmwe amawanga gonna, mulabe obuyinike bwange; Abawala bange n'abalenzi bagenze mu busibe. N'ayita baganzi bange, naye ne bannimba; Bakabona bange, n'abakadde bange baaweerayo obulamu bwabwe mu kibuga, Nga bwe beenoonyeza emmere okuweezaweeza emmeeme zaabwe. Tunula, ayi Mukama; kubanga ndi munaku, emmeeme yange yeeraliikiridde; Omutima gwange gukyuse munda yange; kubanga njeemye nnyo nnyini. Ebweru ekitala kinyaga, mu nju mulimu ng'okufa. Bawulidde nga nzisa ebikkowe; tewali na wa kunkubagiza; Abalabe bange bonna bawulidde ennaku ze ndabye; basanyuse kubanga okireese. Leeta olunaku lwe walangirira, nabo balifaanana nga nze. Obubi bwabwe bwonna butuuke mu maaso go; Era obakole nga bw'onkoze nze olw'okusobya kwange kwonna; Kubanga ebikkowe bye nzisa bingi, n'omutima gwange guyongobedde. “Mukama mu busungu bwe nga atadde muwala wa Sayuuni wansi w'ekire!” Asudde ku nsi okuva mu ggulu obulungi bwa Isiraeri, So tajjukidde ntebe ya bigere bye ku lunaku olw'obusungu bwe. Mukama azikiriza awatali kusaasira ennyumba zonna eza Yakobo; Mu busungu bwe amenyemenye ebifo eby'amaanyi eby'omuwala wa Yuda; Akkakkanyizza okutuuka ku ttaka, Mu buswavu obwakabaka n'abakungu baamu. Ajjiddewo ddala mu busungu, amaanyi gonna aga Isiraeri; Abaggyeeko omukono gwe ogwa ddyo, mu maaso g'omulabe; Era ayokezza Yakobo ng'omuliro ogwaka ennyo, ogwokya enjuyi zonna. Anaanudde omutego gwe, ng'omulabe, n'omukono gwe ogwa ddyo ng'omulabe, Era asse byonna ebyasanyusanga amaaso gaffe, Mu weema ey'omuwala wa Sayuuni, mw'afukidde obusungu bwe ng'omuliro. Mukama afuuse ng'omulabe, n'azikiriza Isiraeri, Azikiriza embiri ze zonna, alese mu matongo ebifo byonna eby'amaanyi; Era ayongedde okuwuubaala n'okukungubaga ku muwala wa Yuda. Era amenyeewo eweema ye lwa maanyi, ng'amenya weema ey'omu lusuku; Alese mu matongo ebifo ebyalondebwa okubeerangamu embaga, Mukama akomezza mu Sayuuni embaga ezaalondebwa ne Ssabbiiti, Mu kunyiiga n'obusungu bwe abonereza kabaka ne kabona. Mukama asudde ekyoto kye, yeeganyi awatukuvu we. Awaddeyo mu mukono gw'omulabe ebisenge bye mbiri ze; Bayoogaanidde mu nnyumba ya Mukama, nga ku lunaku olwalondebwa olw'embaga. Mukama amaliridde okuleka mu matongo ebisenge eby'omuwala wa Sayuuni; Yabipima n'omugwa, era n'atayimiriza mukono gwe okuleka okuzikiriza; Yaaletera enkomera ne bbugwe okukungubaga, biggweerawo wamu; Emiryango gyakyo gibulidde mu ttaka; azikirizza era amenye ebisiba byagyo; Kabaka we n'abakungu be bali mu mawanga eteri mateeka; Weewaawo, bannabbi be tebakyalaba kwolesebwa okuva eri Mukama. Abakadde ab'omuwala wa Sayuuni batudde ku ttaka, mu kasirise; Beesize enfuufu ku mitwe gyabwe; era beesibye ebibukutu; Abawala ba Yerusaalemi bakoteka emitwe. Amaaso gange gazzeko ekifu olw'okukaaba amaziga, emmeeme yange yeeraliikiridde, Omutima gwange munakuwavu olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange; Kubanga abaana abato n'abayonka bazirikira mu nguudo ez'omu kibuga. Bakaabirira bannyaabwe, nti, “Eŋŋaano n'omwenge biri ludda wa?” Nga bazirikira ng'abasajja abafumitiddwa mu nguudo ez'omu kibuga, ng'obulamu bwabwe buggwerawo mu bifuba bya bannyaabwe. Kiki kye nnaakutegeeza, mbeere omujulirwa gy'oli? Kiki kye nnaafaananya naawe, ayi omuwala wa Yerusaalemi? Kiki kye nnenkanyankanya naawe, ndyoke nkusanyuse, ayi omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja? Kubanga ng'ennyanja gy'ekoma obugazi, n'okwonoonekakwo gye kukoma; Ani ayinza okukuwonya? Bannabbi bo balabye okwolesebwa okutaliimu okw'obulimba; So tebakunnyonnyodde obutali butuukirivu bwo, balyoke bakomyewo emikisa gyo, era bakuvunuulidde ebirooto eby'obulimba era ebibuzabuza. Bonna abayitawo bakukubira mu ngalo; Basooza ne banyeenyereza omutwe gwabwe omuwala wa Yerusaalemi nga boogera nti, “Kino kye kibuga abantu kye baayitanga nti, Obulungi obw'Abatuukirira, Essanyu ery'ensi zonna?” Abalabe bo bonna bakwasamidde akamwa kaabwe, Basooza ne baluma obujiji; boogera nti, “Tumuzikiriza!” Mazima luno lwe lunaku lwe twasuubira; twalulindirira, era tululabye. Mukama akoze ekyo kye yateesa; Atuukirizza ekigambo kye yalagira mu nnaku ez'edda; Atuzikirizza awatali kisa; Era awadde abalabe baffe okutweyagalirako, Awadde amaanyi abo abakukyawa. Omutima gwabwe gwakaabira Mukama! Ayi bbugwe ow'omuwala wa Sayuuni, amaziga gaabwe gakulukuta ng'omugga emisana n'ekiro! Towummula n'akatono; emmunye y'eriiso lyo terekangayo kukaaba maziga! Golokoka, okaabe mu kiro ebisisimuka we bitandikira! Fukumula ebikuli ku mutima gwo ng'amazzi mu maaso ga Mukama! Yimusa emikono gyo gy'ali, olw'obulamu bw'abaana bo abato, Abaagala okufa enjala mu buli luguudo we lutandikira. Tunula, ayi Mukama, olabe! Ani gw'okoze bw'otyo? Kisaana abakazi balye abo ababavamu? abaana be balera? Kisaana kabona ne nnabbi battirwe mu kifo ekitukuvu ekya Mukama? Mu nfuufu eyo mu nguudo mugalamira abavubuka n'abakadde; Abawala bange n'abalenzi bange battiddwa ne kitala; Obattidde ku lunaku olw'obusungu bwo; osse so tosaasidde nakatono. Nga bw'oyita ku lunaku lw'embaga olulonde, bw'otyo bw'oyise entiisa yange ku buli ludda, So tewali yawonawo, newakubadde eyasigalawo ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; Abo be nnabuusabuusanga n'endera omulabe wange abazikiriza. Nze ndi muntu oyo, eyalaba ennaku wansi w'omuggo ogw'obusungu bwe. Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana. Mazima ku nze kwakyusiriza omukono gwe buli kiseera okuzibya obudde. Omubiri gwange n'olususu lwange abikadiyizza; amenye amagumba gange. Anzingizizza n'anneetoolooza omususa n'okulumwa. Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda. Ankomedde olukomera n'okuyinza ne siyinza kufuluma; azitoyeza olujegere lwange. Weewaawo, ne bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa, aggalira okusaba kwange. Akomedde amakubo gange, n'amayinja amateme, akyamizza amakubo gange. Ali gye ndi ng'eddubu eteega, ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama. Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; andesse awo ttayo. Anaanudde omutego gwe, n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale ke. Ayingizizza mu mmeeme yange obusaale obuli mu mufuko gwe. Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna; n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde. Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza ebikaawa. Aleetedde amannyo gange okumeketa oluyinjayinja, n'okwekulukunya mu vvu. Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe; nneerabidde essanyu bwe lifaanana. Ne njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, n'okusuubira kwange okuva eri Mukama.” Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa! Emmeeme yange ekyabijjukira, era ekutamye munda yange. Nkijjukira ekyo, era kyenvudde mbeera n'okusuubira. Kwe kusaasira kwa Mukama, ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye, tekiggwaawo. Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi. “Mukama gwe mugabo gwange,” emmeeme yange bw'eyogera; “bw'entyo nnasuubiriranga mu ye.” Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya. Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'agumiikiriza. Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe. Atuule yekka asirike, kubanga abimukwassizza. Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira. Aweeyo ettama lye eri oyo amukuba; agumire okuvumibwa. Kubanga Mukama, talitusuula ennaku zonna. Kubanga newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa, ng'obugazi bw'okusaasira kwe okutuukiridde bwe buli. Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okulumya abaana b'abantu. Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi, Okukyamya ensonga y'omuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo, N'okusaliriza mu misango, ebyo Mukama tabisiima. Ani oyo ayogera, era ne kituukirira, okujjako Mukama nga akiragidde? Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo, ssi mwe muva ebibi n'ebirungi? Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki, omuntu okubonerezebwa olw'ebibi bye? Tukebere tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama. Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, “Tusobezza, era tujeemye; era naawe tosonyiye.” “Webisse obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde.” Weebisseeko ekire, okusaba kwaffe kuleme okukutuukako. Otufudde ng'empitambi, n'ebisasiro wakati mu mawanga. Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe. Entiisa, n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira. Amaaso gange gakulukusa emigga egy'amaziga, olw'okuzikirira kw'abantu bange. Amaaso gange gatonnya, amaziga gange ganaakulukuta obutalekaayo, tegakalira n'akatono. Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'asinziira mu ggulu. Amaaso gange gandetera okunakuwala olw'ebyo ebituuse ku bawala bonna ab'ekibuga kyange. “Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi,” abo abafuuka abalabe bange awatali nsonga. Bankasuka nga ndi mulamu mu bunnya, era bansuddeko amayinja. Amazzi gaakulukuta, nga gayita ku mutwe gwange; “ne njogera nti, ‘Mmaliddwawo’” Nnakaabira erinnya lyo, ayi Mukama, nga nsinziira ku ntobo y'obunnya eyo wansi ennyo. N'owulira eddoboozi lyange; toziba kutu kwo eri okukaaba kwange okw'okuyambibwa. Wansemberera ku lunaku kwe nnakukaabirirako; n'oyogera nti, Totya. Ayi Mukama, wawoza ensonga ez'emmeeme yange; wanunula obulamu bwange. Ayi Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango. Olabye eggwanga lyonna lye bampalanako, n'enkwe zonna ze bansalira. Owulidde okuvuma kwabwe, ayi Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira; Emimwa n'ebirowoozo by'abo abaagala okunzita bangigganya okuzibya obudde. Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe; nze ndi luyimba lwabwe. Olibasasula empeera, ayi Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe. Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo kiriba kubo. Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama. “Zaabu ng'eyonoonese!” Zaabu ennungi ennyo nnyini nga efuuse! Amayinja ag'omu kifo ekitukuvu gasaasaanyiziddwa buli luguudo we lutandikira. Batabani ba Sayuuni ab'omuwendo omungi, omuwendo gwabwe gwenkana zaabu ennungi, kaakati bayitibwa nsuwa za bbumba, omulimu gw'emikono gy'omubumbi! Era n'emisege giggyayo amabeere, ne giyonsa abaana baagyo, omuwala w'abantu bange afuuse mukambwe nga bamaaya mu ddungu. Olulimi lw'omwana ayonka lwegasse n'ekibuno kye olw'ennyonta; Abaana abato basaba emmere, so tewali agibabegera. Abaalyanga emmere ennungi bawuubaalira mu nguudo; Abaakulira mu ngoye entwakaavu, kati bagalamira mu ntuumu ze vvu. Kubanga obutali butuukirivu bw'omuwala w'abantu bange businga obunene ekibi kya Sodomu, Ekyasuulibwa mu kaseera akatono, so nga tewali eyakissaako omukono. Abakungu baali balongoofu, okusinga omuzira, baali beeru okusinga amata. Emibiri gyabwe gyasinga amayinja amatwakaavu okumyuka; baali banyirivu nga safiro. Amaaso gaabwe gaasinga ekisiiriza okuddugala; tebaamanyibwa mu nguudo, Olususu lwabwe lwerangidde ku magumba gabwe; lukaze, lufuuse ng'oluku. Abattiddwa mu lutalo basinga abo abafudde enjala; Kubanga abo bayongobera nga bafumitiddwa, olw'okubulwa ebibala eby'omu nnimiro bye balya. Abakazi ab'andibadde ab'ekisa ekingi, bafumbye abaana baabwe n'emikono gyabwe bo; Bafuuse kya kulya gyebali mu kuzikirira kw'omuwala w'abantu bange. Mukama atuukirizza ekiruyi kye, era afukidde ddala obusungu bwe obukambwe; Era akumye omuliro mu Sayuuni ogwokezza emisingi gyakyo. Bakabaka b'ensi tebakkiriza, newakubadde abo bonna abatuula mu nsi zonna; Ng'omulabe, n'oyo abakyawa yandiyinzizza okuyingira mu miryango gy'e Yerusaalemi. Kino kyaliwo lwa bibi bya bannabbi baamu n'obutali butuukirivu bwa bakabona baamu, Abaayiwa omusaayi gw'abatuukirivu wakati mu kyo. Bawaba ng'abazibe b'amaaso mu nguudo, boonoonese n'omusaayi, N'okuyinza abantu ne batayinza kukwata ku byambalo byabwe. “Muveewo! Temuli balongoofu!” Abantu bwe baabalangira; “Muveewo! Muveewo! Temukwatako!” Bwe badduka ne bawaba, abantu ne boogera mu mawanga nti, “Tebakyaddayo kubeera wano naffe nate.” Obusungu bwa Mukama bubasaasaanyizza; era takyabassaako mwoyo, Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, n'Abakadde tebakyalagibwa kusaasirwa. Amaaso gaffe gaaziba nga tutunuulira okubeerwa kwaffe okutaliiko kye kugasa; Bwe twalindirira, eggwanga eritayinza naakutulokola. Abasajja bacocca ebisinde byaffe, n'okuyinza ne tutayinza kutambulira mu nguudo zaffe; Enkomerero yaffe eneetera kutuuka, ennaku zaffe zituukiridde; kubanga enkomerero yaffe etuuse. Abatuyigganya basinga empungu ez'omu bbanga embiro; Batucoccera ku nsozi, baatuteegera mu ddungu. Omukka ogw'omu nnyindo zaffe, oyo Mukama gwe yafukako amafuta, yakwatibwa mu bunnya bwabwe; Gwe twayogerako nti, “Wansi w'ekisiikirize kye tulituula mu mawanga.” Sanyuka ojaguze, ayi omuwala wa Edomu, abeera mu nsi ya Uzi; Nammwe gye muli ekikompe gye kiriyisibwa; olitamiira ne weebikkula. Okubonereza obutali butuukirivu bwo, ayi omuwala wa Sayuuni, kutuukiridde; Takyakutwala nate mu busibe; Alibonereza obutali butuukirivu bwo, ayi omuwala wa Edomu; Alibikkula ebibi byo. Jjukira, ayi Mukama, ebitutuuseeko; Tunula olabe okuvumibwa kwaffe! Obusika bwaffe bukyusiddwa, okuba obw'abannamawanga, Ennyumba zaffe okuba ez'abagwira. Tufuuse bamulekwa, so tetulina bakitaffe, Bannyaffe bali nga bannamwandu. Tuteekwa okusasulira amazzi getunywa; Enku ze tufuna bazituguza. Nga batadde ekikoligo mu nsingo zaffe batucocca; Tukooye so tetulina kiwummulo. Tubagololedde Abamisiri emikono, N'Abasuuli olw'okufuna emmere emala. Bakitaffe baayonoona so tebakyaliiwo; Naffe twetisse obutali butuukirivu bwabwe. Abaddu batufuga; Tewali wa kutulokola mu mukono gwabwe. Tufuna emmere yaffe lwa kusingawo bulamu bwaffe, era n'olw'ekitala eky'omu ddungu. Olususu lwaffe lubugumiridde ng'akabiga, lw'okerera ne bbugumu ly'enjala. Baakwatira abakazi mu Sayuuni, Abawala abatamanyi musajja mu bibuga bya Yuda. Abakungu baawanikibwa n'omukono gwabwe; Abakadde tebassibwamu kitiibwa. Abavubuka bawalirizibwa okussa ku lubengo, N'abaana abato beesittala nga beetikka enku. Abakadde bavudde ku mulyango gw'ekibuga, Abalenzi baleseeyo okuyimba kwabwe. Essanyu ery'omu mutima gwaffe likomye; Okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga. Engule egudde evudde ku mutwe gwaffe; Zitusanze, kubanga twonoonye! Omutima gwaffe kyeguvudde guyongobera; Olw'ebyo amaaso gaffe kyegavudde gayimbala; Olw'olusozi lwa Sayuuni, olulekeddwawo; Ebibe bitambulira okwo. Naye ggwe, ayi Mukama, ofuga ennaku zonna; Nnamulondo yo ebeerera emirembe gyonna. Lwaki okutwerabira ennaku zonna, Lwaki otuleka obwenkanidde awo? Tukyuse gy'oli, ayi Mukama, naffe tunaakyusibwa! Ennaku zaffe ozizze buggya, ng'edda. Naye otusuulidde ddala? Ddala otusunguwalidde bw'otyo? Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu (30) mu mwezi ogwokuna ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano, bwe nnali ndi mu basibe ku mabbali g'omugga Kebali, eggulu ne libikkulibwa, ne ndaba okwolesebwa kwa Katonda. Ku lunaku olwo olw'okutaano olw'omwezi, gwe gwali omwaka ogw'okutaano ogw'okusibibwa kwa kabaka Yekoyakini, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey'Abakaludaaya ku mabbali g'omugga Kebali; amaanyi ga Mukama ne gajja ku ye eyo. Awo ne ntunula, ne ndaba embuyaga ekunta n'amaanyi ng'eva mu bukiikakkono. Ekire ekinene ekyetooloddwa okutangalijja, kyali kirimu omuliro ogw'ezingazinga ogumyansa obutasalako. Wakati mu muliro ogwo, mwalimu ekifaanana ng'ekikomo ekizigule. Era mu gwo wakati ne muva ekifaananyi eky'ebiramu bina. By'ali birabika ng'abantu. Era buli kimu kyalina obwenyi buna, era buli kimu ku byo kyalina ebiwaawaatiro bina. Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n'ebigere byabyo byali ng'ebinuulo by'ennyana, era nga bitangalijja ng'ekikomo ekizigule. Wansi w'ebiwaawaatiro byabyo ku mbiriizi zaabyo ennya, byalina emikono ng'egy'abantu: ebyo ebina byalina obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo bwe bityo. Ebiwaawaatiro byabyo byagattibwa buli kiwaawaatiro ne kinnaakyo; tebyakyuka bwe byatambula; byagenda buli kimu nga byesimbye. Byalina ekifaanana obwenyi: Buli kimu kyalina obwenyi ng'obw'omuntu mu maaso, obwenyi ng'obw'empologoma ku ludda olwa ddyo obwenyi ng'obw'ente ku ludda olwa kkono n'obwenyi ng'obw'empungu emabega. Byali bifaanana bwe bityo mu bwenyi bwabyo. Ebiwaawaatiro byabyo bwe byeyanjuluzanga waggulu, ebiwaawaatiro bibiri ebya buli kimu ne byekoona ku bya kinnaakyo ekikiriraanye, n'ebirala ebibiri ne bibikka omubiri gwabyo. Buli kimu kyagendanga butereevu omwoyo gye gwakirazanga awatali kukyuka nga kigenda. Wakati w'ebiramu ebyo, waaliwo ekintu ekifaanana ng'amanda ag'omuliro agaaka ng'emimuli. Kyatambulanga ne kidda eno n'eri wakati mu biramu ebyo, era omuliro ogwo, gwayakanga nga guvaamu enjota. Ebiramu ebyo byaddukanga embiro ate ne bidda, nga bw'olaba okumyansa kw'eggulu. Awo bwe nnali nga ntunuulira ebiramu ebyo, ne ndaba nnamuziga nnya nga ziri ku ttaka, buli emu ng'eri ku mabbali ga buli kiramu. Nnamuziga zonna zaali zifaanana, buli emu yali etangalijja ng'ejjinja ery'omuwendo, era ng'erabika ng'erimu nnamuziga endala wakati waayo. Zaali zisobola okutambulira ku njuyi zonna ennya awatali kumala kukyuka. Empanka za nnamuziga ezo ennya, zaali mpavu, nga zitiisa, era nga zijjudde amaaso enjuyi zonna. Era ebiramu bwe byatambulanga, nga ne nnamuziga zigendera ku mabbali gaabyo: era ebiramu bwe byasitukanga okuva ku ttaka, ne nnamuziga nazo nga zisituka. Ebiramu gye byayagalanga okugenda, nga gye bigenda, era nga ne nnamuziga nazo gye zigenda, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwali mu zo. Ebyo bwe byatambulanga, ne bano baatambulanga; era ebyo bwe byayimiriranga, ne bano baayimiriranga; era ebyo bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo: kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga. Era waggulu w'emitwe gy'ebiramu waaliwo ekifaananyi kye bbanga, nga kimasamasa ng'endabirwamu. Era wansi w'ebbanga ebiwaawaatiro byabyo byali byegolodde, Buli kimu nga kigolodde ebiwaawaatiro bibiri nga bikoona ku bya kinnewaakyo ekikiriraanye, ate ebibiri ne kibyebikka. Era bwe byabuukanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo nga kulinga okuwuuma kw'amazzi amangi, ng'eddoboozi ly'Omuyinza w'ebintu byonna, era nga okw'oluyoogaano lw'eggye. Bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo. Awo bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo, ne wawulikika eddoboozi waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo. Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo waliwo ekyafaanana ng'entebe y'obwakabaka, ng'etemagana ng'ejjinja lya safiro, ate ku yo kwali kutuddeko afaanana ng'omuntu. Ne ndaba ng'amasamasa ng'ezaabu etabuddwamu effeeza, ng'ayaka ng'omuliro okwetooloola, okuva ku kiwato kye okwambuka. Ate okuva ku kiwato kye n'okukka, ne ndaba ekiri ng'omuliro, era waaliwo okumasamasa okumwetoolodde. Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw'enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama. Awo bwe nnakiraba, ne nvuunama ku ttaka, ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera. Oyo eyayogera n'aŋŋamba nti, “ Omwana w'omuntu, yimirira ku bigere byo, nange naayogera naawe.” Awo bwe yali ng'akyayogera nange, Omwoyo ne guyingira mu nze, ne gunnyimiriza ku bigere byange, ne mpulira oyo eyayogera nange. N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri, eri eggwanga ejjeemu: bo ne bajjajjaabwe bansobya okuva edda n'okutuusa ku lunaku olwa leero. Bantu bakakanyavu, era tebanzisaamu kitiibwa. Nkutuma eri abo, era olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda.’ Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaagaana, kubanga nnyumba njeemu, naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi. Naawe, ggwe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga bikwetoolodde, era ng'obeera wakati mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'obukambwe bwabwe, amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu. Era olibagamba ebigambo byange, oba nga banaawulira, oba nga banaagaana: kubanga bajeemu nnyo nnyini. Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba; tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa.” Awo bwe nnatunula, laba, omukono ne gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo; n'agwanjululiza mu maaso gange; gwali guwandiikiddwako munda ne kungulu. Nga guwandiikiddwamu ebigambo eby'okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike. Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, lya ekyo ky'olaba, lya omuzingo guno, ogende ogambe ennyumba ya Isiraeri.” Awo ne njasama akamwa kange n'andiisa omuzingo. N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, lya ojjuze olubuto lwo omuzingo gwe nkuwa, okkute.” Kale ne ngulya, ne guba mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki okuwoomerera. Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, genda otuuke eri ennyumba ya Isiraeri, oyogere nabo ebigambo byange. Kubanga totumiddwa eri eggwanga ery'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Isiraeri; si eri amawanga amangi ab'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, b'otoyinza kutegeera bigambo bye bagamba. Mazima singa nakutuma gyebali, bandikuwulirizza. Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebaagala kuwuliriza nze bye mbagamba: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri bantu ba mputtu, era ba mutima mukakanyavu. Naye naawe kaakano, nkufudde omugumu era omukakanyavu nga bo. Nkufudde mugumu ng'ejjinja ery'embaalebaale tobatyanga, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.” Era nate n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, ebigambo byange byonna bye ndikubuulira, bikkirize mu mutima gwo, obigondere. Era genda eri abantu b'eggwanga lyo abali mu buwanganguse, oyogere nabo obabuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo.” Awo omwoyo ne gunsitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ery'okuwulukuka okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe okuva mu kifo kye.” Awo ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikomaganako, n'okuwuuma kwa bannamuziga ku mabbali gaabyo okuwuuma kw'okuwulukuka okunene. Awo omwoyo negunsitula ne guntwala: ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'omwoyo gwange nga gubugumye, omukono gwa Mukama ne guba gwa maanyi ku nze. Awo ne ndyoka njija eri ab'obusibe e Terabibu, abaabeera ku mugga Kebali, ne mu kifo mwe baabeera; ne ntuula awo mu bo nga nsamaaliridde ne mmala ennaku musanvu. Awo olwatuuka ennaku musanvu bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky'omu kamwa kange, obawe okulabula okuva gye ndi. Bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; naawe n'otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. Era naye bw'olabula omubi, n'atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo. Nate omuntu omutuukirivu bw'akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n'ebikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. Era naye bw'olabula omuntu omutuukirivu, aleme okukola ekibi n'atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng'owonyezza emmeeme yo.” Awo omukono gwa Mukama ne guba ku nze eyo; n'aŋŋamba nti, “Golokoka ofulume ogende mu lusenyi, nange ndyogerera naawe eyo.” Awo ne ngolokoka ne nfuluma ne ŋŋenda mu lusenyi: kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kiyimiridde eyo, ng'ekitiibwa bwe kyali kye nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali: ne nvuunama amaaso gange. Awo omwoyo ne guyingira mu nze ne gunnyimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange n'aŋŋamba nti, “ Genda weggalire mu nnyumba yo. Naye ggwe, omwana w'omuntu, laba, balikussaako enjegere, ne bazikusibisa, so tolifuluma mu bo: era ndyegassa olulimi lwo n'ekibuno kyo, obeere kasiru era oleme okubeera gyebali anenya: kubanga nnyumba njeemu. Naye bwe njogera naawe, ndyasamya akamwa ko, naawe olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Awulira awulire; n'oyo alekayo alekeyo; kubanga nnyumba njeemu.’ ” “Kaakano, ggwe omwana w'omuntu, ddira ettoffaali, oliteeke mu maaso go, olikubeko ekifaananyi ky'ekibuga Yerusaalemi. Ekifaananyi kizimbeko ebigo, okituumeko ekifunvu; era okiteekeko ensiisira okukyetooloola n'ebifunvu bye banaatomera enjuyi zonna. Era ddira ekikalango eky'ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga. Okyuke okitunuulire, kibe nga kizingiziddwaako ke kanaaba akabonero akalabula ennyumba ya Isiraeri.” “Era nate oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono, oluteekeko obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri. Ennaku zolimala ng'ogalamidde ku lubiriizi lwo, olyetikka obutali butuukirivu bwabwe. Ennaku z'olimala ziri bisatu mu kyenda (390), nga weetisse obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri: Zino zenkanankana n'omuwendo gw'emyaka gye balimala nga babonerezebwa. Era nate bw'olimala ekyo, olyebakira ku ludda lwo olwa ddyo, okw'etikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku ana (40), buli lunaku mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe. Olikyusa amaaso go n'otunulira Yerusaalemi ekizingiziddwa, okigalulire ekikonde ky'okifunyidde, okitegeeze ebigenda okukituukako. Nja kukusiba n'emiguwa, obe nga tosobola kwekyusa okwebakira ku ludda olulala, okutuusa lw'olimala ennaku ez'okuzingiza kwo.” “Era twala eŋŋaano, sayiri, ebijanjaalo, kawo, omuwemba n'obulo, obitabule wamu, obifumbemu emmere ey'omugoyo, gy'onoolyanga mu nnaku ebisatu mu ekyenda (390), z'olimala nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono. N'emmere yo gy'onoolyanga eneepimibwanga, sekeri abiri (20) buli lunaku: onoogiriiranga mu kiseera kye kimu buli lunaku. Era onoonywanga n'amazzi amapime, ekitundu ekya yini eky'omukaaga, onooganyweranga mu kiseera kye kimu buli lunaku. Emmere onoolyanga nkalirire, nga migaati gya sayiri, era onoogikaliriranga ku manda ga mpitambi ya bantu, ng'ogikalirira abantu nga balaba.” Awo Mukama n'agamba nti, “Era bwe batyo n'abaana ba Isiraeri bwe banaalyanga emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasaasaanyiza.” Awo ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! laba nze sseeyonoonanga, kubanga okuviira ddala mu buto bwange n'okutuusa kati, siryanga ku nnyama ya nsolo efudde yokka, wadde etaaguddwa ensolo, era siryanga ku kintu ekiyitibwa eky'omuzizo.” Awo n'alyoka aŋŋamba nti, “Kale nkukkirizza okozese obusa bw'ente, mu kifo ky'empitambi y'abantu, obwo bw'oba ofumbisa emmere yo.” Era nate n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, laba, ndikendeeza emmere mu Yerusaalemi, kale banaalyanga emmere nga mpime nga beeraliikirira, era banaanywanga amazzi nga magere mu kutya. Balibulwa emmere n'amazzi, batunulaganeko nga basobeddwa, baliyongobera olw'ebibi byabwe.” Mukama n'aŋŋamba nti, “ Omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okikozese ng'akamwano ak'omumwi, okimwese enviiri zo n'ekirevu kyo n'oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime, era ozigabanyeemu. Ekitundu eky'okusatu eky'enviiri okyokeranga mu kifaananyi ky'ekibuga, ennaku ez'okukizingiza nga ziweddeko. Ekitundu eky'okusatu ekirala okikwate, ogende ng'okitematema n'ekitala nga weetooloola ekibuga. N'ekitundu eky'okusatu ekisigaddewo, okisaasaanyize mu bbanga, kitwalibwe empewo, nange ndisowolayo ekitala kizigoberere. Ku nviiri ezo osigazangako entonotono, oziteeke mu ggemo lye kyambalo kyo. Era ne ku ezo otwalangako, ezimu ozisuule mu muliro wakati, ziggye, mu zo omuliro mwe guliva ogulibuna ennyumba yonna eya Isiraeri.” Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga kino Yerusaalemi, nkitadde wakati mu mawanga, ng'ensi zikyetoolodde. Kijeemedde ebiragiro byange n'amateeka gange, n'ekikola ebibi okusinga ensi ezikyetoolodde. Ab'omu Yerusaalemi bajeemedde ebiragiro byange, era bagaanye okukwata amateeka gange. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, ‘Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde.’ Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, ‘Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba. Era ndikolera mu ggwe ekyo kye ssikolanga, era kye ssigenda kukola nate ekiri bwe kityo, olw'emizizo gyo gyonna. Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna. Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga wayonoona awatukuvu wange n'ebibyo byonna eby'ebivve n'ebibyo byonna eby'emizizo, nange kyendiva nkukendeeza; so n'amaaso gange tegalisonyiwa so nange sirikwatibwa kisa. Ekitundu kyo eky'okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n'enjala wakati mu ggwe; n'ekitundu eky'okusatu kirigwa n'ekitala okukwetooloola; n'ekitundu eky'okusatu ndikisaasaanyiza eri empewo zonna, n'ensowola ekitala ekiribagoberera. Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange. Era nate ndikufuula amatongo n'ekivume mu mawanga gonna agakwetoolodde, abo bonna abayitawo nga balaba. Awo kiriba kivume n'ekikiino ekiyigirwako era ekisamaaliriza eri amawanga agakwetoolodde, bwe ndituukiririza emisango mu ggwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era nga nnenya n'ekiruyi: nze Mukama nkyogedde: bwe ndibaweerezaako obusaale obubi obw'enjala obw'okuzikiriza, bwe ndiweereza okubazikiriza: era ndyongera ku mmwe enjala, era ndimenya omuggo gwammwe ogw'omugaati; era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.’ ” Era ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, “ Omwana w'omuntu, tunuulira ensozi za Isiraeri, ozigambe nti, Mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu, nti Laba, nze, nze mwene, ndibaleetako ekitala, era ndizikiriza ebifo byammwe ebigulumivu. N'ebyoto byammwe birirekebwawo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba birimenyebwa, era abantu bammwe abattibwa ndibasuula mu maaso g'ebifaananyi byammwe. Era ndigalamiza emirambo gy'abaana ba Isiraeri mu maaso g'ebifaananyi byabwe, era ndisaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe. Ebibuga byammwe ebiri mu bifo byonna gye mubeera birizisibwa, n'ebifo ebigulumivu birirekebwawo ttayo, ebyoto byammwe birizisibwa era birekebwawo, n'ebifaananyi byammwe bimenyebwe biggweewo, n'ebifo byammwe kwemwotereza obubane bizikirizibwe, n'emirimu gyammwe giggibweewo. Abantu bo balittibwa baligwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze ndi Mukama. Era naye ndireka ekitundu ekifisseewo, kubanga muliba n'abamu abaliwona ekitala mu mawanga, bwe mulisaasaanyizibwa mu nsi nnyingi. Kale abo abaliwona ku mmwe balinjijukira nga bayima mu mawanga gye balitwalibwa nga basibe, bwe nnamenyeka olw'omutima gwabwe omwenzi, oguvudde ku nze, n'olw'amaaso gaabwe agagenda nga gayenda okugoberera ebifaananyi byabwe: kale balyetamwa mu maaso gaabwe bo olw'obubi bwe bakola mu mizizo gyabwe gyonna. Era balimanya nga nze Mukama: saayogerera bwereere nga ndibakola obubi buno.” Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Kuba n'omukono gwo, era samba n'ekigere kyo, oyogere nti Woowe! olw'emizizo gyonna emibi egy'ennyumba ya Isiraeri: kubanga baligwa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli. Ali ewala alifa kawumpuli; n'oyo ali okumpi aligwa n'ekitala; n'oyo alisigalawo n'azingizibwa alifa enjala: bwe ntyo bwe ndituukiririza ekiruyi kyange ku bo. Nammwe mulimanya nga nze ndi Mukama, abasajja baabwe abattiddwa bwe baliba mu bifaananyi byabwe okwetooloola ebyoto byabwe, ku buli lusozi oluwanvu, ku ntikko zonna ez'ensozi ne wansi wa buli muti omubisi ne wansi wa buli mwera omuziyivu, ekifo mwe baaweerangayo evvumbe eddungi eri ebifaananyi byabwe byonna. Nange ndibagololerako omukono gwange ne ndekessaawo ensi ne ngizisa, okuva ku ddungu e Dibula, okubuna ennyumba zaabwe zonna: kale balimanya nga nze ndi Mukama.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Ggwe omwana w'omuntu, bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensi ya Isiraeri nti Enkomerero: enkomerero yennyini etuuse ku nsonda ennya ez'ensi. Kaakano enkomerero ekutuuseeko, nange ndikuweereza ku busungu bwange, era ndikusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikubonereza olw'eby'emizizo byonna bye wakola. Sirikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa, naye ndibasasula ng'engeri zammwe, n'ebikolwa byammwe ebibi ebiri mu mmwe bwe biri: kale mulimanya nga nze Mukama.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Akabi nga kaddirirwa kaanaako: laba, kajja. Enkomerero etuuse, enkomerero yennyini etuuse, ejjiridde ggwe: laba, ejja. Akabi kakujjidde, ayi ggwe atuula mu nsi: ekiseera kituuse, olunaku luli kumpi; olunaku olw'okusasamaliramu so si lwa kujaguliriza ku nsozi. Kaakano nnaatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne nkumalirako ekiruyi kyange, ne nkusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikusasula ng'eby'emizizo byonna bwe biri bye wakola. So sikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa: ndibasasula ng'engeri zammwe, n'ebikolwa byammwe ebibi ebiri mu mmwe bwe biri; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba. Laba, olunaku, luuluno lutuuse! okusalirwa omusango kutuuse, obutali bwenkanya bweyongedde, n'amalala gayitiridde. Ebikolwa eby'obukambwe bifuuse muggo okwongera okukola obubi. Tewaliba ku bo alisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe, wadde eby'obugagga bwabwe era tewaliba mukulu mu bo. Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so n'atunda aleme okunakuwala: kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna. Omutunzi taliddizibwa ekyo kye yatunda, ne bwe baliba nga bakyali balamu: kubanga obusungu bwa Mukama buli ku kibiina kyonna, era olw'obutali butuukirivu tewaliba n'omu aliwonya bulamu bwe. Bafuuye ekkondeere ne bateekateeka buli kimu, naye tewali agenda mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku kibiina kyonna. Ekitala kiri ebweru, kawumpuli n'enjala biri munda: ali mu nnimiro alifa n'ekitala; n'oyo ali mu kibuga enjala ne kawumpuli birimumalawo. Naye abo abaliwonawo ne baddukira ku nsozi, baliba nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli omu nga anakuwala olw'obutali butuukirivu bwe. Emikono gyonna girigwamu amaanyi, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi. Balyambala ebibukutu, ne bakwatibwa ensisi; balimwa emitwe gyabwe gyonna, ne bakwatibwa ensonyi n'okuswala. Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng'ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; tebalikkuta newakubadde okukkusibwa: kubanga ebyo bye byabaleetera okugwa mu bibi. Ebintu byabwe eby'omuwendo byabaleetera amalala era ekyavaamu kwe kukola ebifaananyi eby'ekivve, era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gyebali. Era ndibiwaayo byonna mu mikono gya bannamawanga okuba omunyago, n'eri ababi ab'omu nsi omugabo gwabwe n'okubyonoona. Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira nga boonoona ekifo kyange ekitukuvu, era abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona. Kola olujegere: kubanga ensi ejjudde emisango egy'okuyiwa omusaayi, era ekibuga kijjudde eby'obukambwe. Kyendiva ndeeta bannamawanga abasinga obubi, ne batwala ennyumba zaabwe: era ndikomya amalala ag'ab'amaanyi; n'ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa. Okuzikirira kujja; era balinoonya emirembe, naye nga tegiriiwo. Akabi kalyeyongera ku kabi, ne ŋŋambo ziryeyongera; era balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi; ne kabona aliba takyalina mateeka gaayigiriza bantu, n'abakadde balibulwa amagezi ge bawa abantu. Kabaka alikungubaga, n'omulangira alijjula obuyinike, n'emikono gy'abantu ab'omu nsi girikankana olw'entiisa. Ndibasalira omusango nga bwe bagusalidde abalala, kale balimanya nga nze Mukama.” Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omukaaga, mu mwezi ogw'omukaaga ku lunaku olw'okutaano olw'omwezi, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n'abakadde ba Yuda nga batudde mu maaso gange, omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikirako eyo. Awo bwe n'atunula ne ndaba ekifaananyi ky'omuntu, nga okuva mu kiwato kye okukka wansi ng'ali ng'omuliro, n'okuva mu kiwato kye okwambuka, ng'amasamasa ng'ekikomo ekizigule. Awo n'agolola ekyali ng'omukono n'ankwata ku muvumbo gw'enviiri ez'oku mutwe gwange; Omwoyo n'ansitula wakati w'ensi n'eggulu n'antwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa kwa Katonda, eri oluggi olw'omulyango ogw'oluggya olw'omunda, ogutunuulira obukiikakkono, awali entebe ey'ekifaananyi ekinyiiza ennyo Katonda. Era awo we wali ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri, nga bwe kyali mu kwolesebwa kwe nnalaba mu lusenyi. Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, yimusa amaaso go kaakano eri ekkubo erigenda obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange eri ekkubo erigenda obukiikakkono, ne ndabayo ekifaananyi ekinyiiza ennyo Katonda nga kiri mu mulyango ku luuyi olw'obukiikakkono olw'omulyango ogw'ekyoto. Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, olaba kye bakola? Olaba eby'emizizo byonna ennyumba ya Isiraeri by'ekolera wano, ebindeteera okwesamba wala awatukuvu wange? Naye onoolaba nate n'emizizo emirala egisingawo.” Awo n'andeeta ku luggi olw'oluggya; awo bwe nnatunula, laba, ekituli nga kiri mu bbugwe. Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, sima ekituli mu bbugwe.” Awo bwe nnamala okukisima, ne ndaba oluggi. N'aŋŋamba nti, “Yingira olabe eby'emizizo egy'obubi gye bakolera wano.” Awo ne nnyingira ne ndaba; era, laba, buli ngeri ey'ebyewalula n'ensolo ez'emizizo n'ebifaananyi byonna eby'ennyumba ya Isiraeri nga bitoneddwa ku bisenge enjuyi zonna. Era nga wayimiridde mu maaso gaabyo abasajja nsanvu (70) ku bakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri, ne wakati mu bo nga muyimiridde Yaazaniya mutabani wa Safani, buli muntu ng'akutte ekyoterezo kye mu mukono gwe; omukka gw'ebyoterezo ebyo nga gunyooka. Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, olabye abakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri kye bakolera mu kizikiza, buli muntu mu kisenge omuli ebifaananyi by'asinza? Kubanga bagamba nti, ‘Mukama tatulaba, era Mukama yaleka ensi.’” Era n'aŋŋamba nti, “Era onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu gye bakola.” Awo n'andeeta eri oluggi olw'omulyango ogw'ennyumba ya Mukama ogw'obukiikakkono, ne ndaba abakazi nga batudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi. Awo n'aŋŋamba nti, “Olabye, omwana w'omuntu? era onoolaba eby'emizizo ebisinga ne ku ebyo.” Awo n'andeeta mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, kale, laba, ku luggi olwa Yeekaalu ya Mukama wakati w'ekisasi n'ekyoto nga waliwo abasajja ng'abiri mu bataano (25), abakubye enkoona Yeekaalu ya Mukama n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ebuvanjuba; era nga basinza enjuba nga batunuulira ebuvanjuba. Awo n'aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w'omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola eby'emizizo gye bakolera wano? Naye bongerako n'okujjuza ensi ebikolwa eby'obukambwe ne bongera n'okunsunguwaza: era, laba, bwe banvuma mu ngeri esingira ddala okuba ey'obujoozi! Kyendiva nange mbamalirako ekiruyi: Ssiribatunuuliza kisa na busaasizi, era ne bwe balindekaanira, ssiribawuliriza.” Awo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu matu gange nti, “Sembeza abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akutte eky'okulwanyisa kye ekizikiriza mu mukono gwe.” Kale, laba, abasajja mukaaga ne bajja nga bayita mu mulyango ogw'engulu ogutunudde e bukiikakkono, buli muntu ng'akutte mu mukono gwe ekissi, nga kubo kuliko omusajja wakati mu bo ayambadde ekyambalo kya bafuta, ng'alina ekikompe kya bwino mu kiwato ow'okuwandiisa. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g'ekyoto eky'ekikomo. Ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali kirinnye okuva ku kerubi kwe kyali, nga kizze ku mulyango ogw'ennyumba. Mukama n'ayita omusajja ayambadde bafuta eyali yeesibye ekikompe kya bwino mu kiwato ow'okuwandiisa. Awo Mukama n'amugamba nti, “ Genda oyiteeyite mu kibuga Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by'abantu abanakuwadde era abakaaba olw'eby'emizizo byonna ebikolebwa mu kyo.” N'abalala n'abagamba nze nga mpulira nti, “ Mmwe muyiteeyite mu kibuga nga mumuvaako emabega, mutte, nga temubaako yenna gwe mukwatirwa kisa. Mutte, abakadde, n'abalenzi n'abawala, n'abaana abato n'abakazi: naye temusemberera muntu yenna aliko akabonero. Era musookere ku watukuvu wange.” Awo ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g'ennyumba. N'abagamba nti, “ Ennyumba mugyonoone, mujjuze empya emirambo gy'abattiddwa: kale mugende.” Awo ne bafuluma ne bagenda batta abantu mu kibuga. Awo olwatuuka, bwe baali nga batta nange nga nsigaddewo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! onoozikiriza Isiraeri yenna afisseewo, ng'ofukira ddala ekiruyi kyo ku Yerusaalemi?” Awo Mukama n'anziramu nti, “Obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri ne Yuda bungi nnyo nnyini, n'ensi ejjudde omusaayi, n'ekibuga kijjudde obutali bwenkanya: kubanga boogera nti, ‘Mukama yaleka ensi, era Mukama talaba.’ Bwentyo nange ssiribatunuulira n'eriiso erisaasira, wadde okubalaga ekisa, naye ndibabonereza olw'ebikolwa byabwe.” Awo omusajja ayambadde bafuta nga yeesibye ekikompe ekya bwino mu kiwato n'azza ebigambo n'agamba nti, “Nkoze nga bw'ondagidde.” Awo ne ntunula, ne ndaba mu bbanga eryali waggulu w'emitwe gy'abakerubi, ekifaanana ng'entebe ey'obwakabaka ekoleddwa mu jjinja lya safiro. Katonda n'agamba omusajja ayambadde bafuta nti, “Yingira wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wansi wa bakerubi, ojjuze ebibatu byo byombi amanda ag'omuliro agava wakati wa bakerubi, ogamansire ku kibuga.” Awo n'ayingira nga ndaba. Era bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo omusajja bwe yayingira; ekire ne kijjuza oluggya olw'omunda. Ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva ku bakerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango ogw'ennyumba; ennyumba n'ejjula ekire, oluggya ne lujjula okumasamasa okw'ekitiibwa kya Mukama. N'okuwuuma kw'ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulirwa ne mu luggya olw'ebweru, nga kuli ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza w'ebintu byonna bw'ayogera. Awo olwatuuka Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde bafuta nti, “Ggya omuliro wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wakati wa bakerubi,” omusajja n'ayingira n'ayimirira ku mabbali ga nnamuziga. Awo omu ku bakerubi n'agolola omukono gwe ng'ayima wakati wa bakerubi, n'atoola omuliro ogwali wakati wa bakerubi n'aguteeka mu bibatu by'oyo ayambadde bafuta, oyo n'agutoola n'afuluma. Awo ne ndaba mu bakerubi embala ey'omukono gw'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabwe. Awo ne ntunula, era, laba, bannamuziga bana nga bali ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga emu nga eri mabbali ga kerubi omu, ne nnamuziga endala nga eri mabbali ga kerubi omulala: n'embala eya zinnamuziga yali ng'efaanana ejjinja lya berulo. Zinnamuziga zonna ennya zali zifaanagana, gy'obeera nti nnamuziga eri munda mu ginaayo. Mu kutambula, bakerubi baayinzanga okugenda ku buli ludda lwa zo ennya, nga tebamaze kukyuka, wabula buli mutwe gwabwe gye gutunudde nga gye bagenda, awatali kumala kukyuka. Omubiri gwabwe gwonna n'amabega gaabwe n'emikono gyabwe n'ebiwaawaatiro byabwe ne zinnamuziga zaabwe ezo ennya, nga bijjudde amaaso enjuyi zonna. Ne mpulira nga zinnamuziga baziyita, zinnamuziga ezeetooloola. Buli kerubi yalina obwenyi buna: obwenyi obusooka bwali bwa nte, obwokubiri bwali bwa muntu, obwokusatu bwali bwa mpologoma n'obwokuna bwali bwa mpungu. Awo bakerubi ne babuuka ne bagenda waggulu mu bbanga. Ebyo bye biramu bye nnalaba ku mabbali g'omugga Kebali. Bakerubi bwe baabuukanga ne zinnamuziga ne zigendera ku mabbali gaabwe. Bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okubuuka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga zalinga ku mabbali gaabwe. Awo bakerubi bwe baayimiriranga nga nazo ziyimirira; era bwe babuukanga waggulu mu bbanga nga nazo zibuukira wamu nabo: kubanga omwoyo gw'ebiramu ebyo gwali mu zo. Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva okuva waggulu ku mulyango gw'ennyumba ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. Bakerubi ne banjuluza ebiwaawaatiro byabwe ne babuuka okuva ku ttaka nga ndaba, ne zinnamuziga ne zigendera ku mabbali gaabwe, baayimirira ku luggi olw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama, ng'Ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu. Ebyo bye biramu bye nnalaba wansi wa Katonda wa Isiraeri ku mabbali g'omugga Kebali, ne mmanya nga be bakerubi. Buli omu yalina obwenyi buna ne biwaawaatiro bina (4). Wansi w'ebiwaawaatiro byabwe waaliwo ekifaanana ng'emikono gy'abantu. Era endabika y'obwenyi bwabwe, yali ddala ng'ey'obwenyi bwe nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali. Mu ndabika yaabwe yennyini baatambulanga beesimbye. Era nate Omwoyo ne gunsitula ne guntwala eri omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama ogutunuula ebuvanjuba: kale, laba, ku luggi olw'omulyango nga kuliko abasajja abiri mu bataano (25), nga wakati mu bo mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b'abantu. N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, bano be basajja abagunja obutali butuukirivu, era abawa amagezi amabi mu kibuga kino: Boogera nti, ‘Ekiseera tekinatuuka eky'okuzimba amayumba: ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’ Kale kyonoova obawa obubaka obubanenya, ayi omwana w'omuntu.” Awo Omwoyo gwa Mukama ne gunzikako, n'aŋŋamba nti, “Yogera nti: Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ayi ennyumba ya Isiraeri, naye mmanyi bye mulowooza. Musse abantu bangi mu kibuga kino, era mujjuzizza enguudo zaakyo abattiddwa.” Mukama Katonda kyava agamba bw'ati nti, “Abo bemuttidde wakati mu kyo, ye nnyama, n'ekibuga ye ntamu: naye mmwe ndikibagobamu. Mutidde ekitala, naye nange ndibaleetako ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda. Era ndibaggya wakati mu kyo, ne mbawaayo mu mikono gya bannamawanga, era mbabonereza olw'emisango gye mwazza. Muligwa n'ekitala; ndibasalira omusango ku nsalo ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama. Ekibuga kino si kye kiriba entamu yammwe, so nammwe si mmwe muliba ennyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isiraeri. kale mulimanya nga nze Mukama: kubanga temutambulidde mu mateeka gange, era temutukirizza biragiro byange, naye mukoze ebyo eby'amawanga agabeetoolodde.” Awo olwatuuka, bwe nali nga nkyayogera ebigambo ebyo, Peratiya mutabani wa Benaya n'afa. Awo ne ngwa wansi nga nneevuunise, ne nkaaba n'eddoboozi ddene ne ŋŋamba nti, “Woowe, Mukama Katonda! onoomalirawo ddala ekitundu kya Isiraeri ekyasigalawo?” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, baganda bo, n'ab'eggwanga lyammwe bwe muli mu buwaŋŋanguse, n'ennyumba yonna eya Isiraeri, abantu ababeera mu Yerusaalemi baboogerako nga bagamba nti, ‘mmwe muvudde awali Mukama, era nti bo Mukama b'awadde ensi okuba obutaka bwabwe.’ Kale yogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga nnabajjulula ne mbatwala ewala mu mawanga, era mbasaasaanyizza mu nsi nnyingi, naye n'eyo nja kubeera Katonda waabwe.’ Kale bategeeze nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mbayoola okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, ne mbawa ensi ya Isiraeri.’ Kale bwe balikomawo baliggyawo ebintu byonna eby'ebivve n'emizizo ne babimalawo. Era ndibawa omutima gumu, era nditeeka omwoyo muggya mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mutima gwabwe, ne mbawa omutima ogw'ennyama: balyoke batambulirenga mu mateeka gange era bakwatenga era bakolenga byonna byenabalagira: banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe. Naye abo abanaagoberera ebintu byabwe eby'ebivve n'emizizo ndibabonereza, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo bakerubi ne balyoka bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe; n'ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu. Ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva wakati mu kibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba. Omwoyo gwa Katonda ne gunsitula ne guntwalira mu kwolesebwa mu basibe abaali mu Bakaludaaya. Awo okwolesebwa kwe nnali ndabye ne kukoma awo. Awo ne njogera n'abo mu busibe ebigambo byonna Mukama bye yali andaze. Era ekigambo kya Mukama kyanjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, obeera wakati mu nnyumba y'abantu abajeemu, abalina amaaso ag'okulaba naye tebalaba, abalina amatu ag'okuwulira naye tebawulira; kubanga bantu bajeemu. Kale, ggwe omwana w'omuntu, teekateeka ebintu eby'obuwaŋŋanguse, osituke osenguke misana nga bonna balaba; osenguke okuva mu kifo kyo odde mu kifo ekirala bonna nga balaba: oboolyawo banaategeera newakubadde nga nnyumba njeemu. Onoofulumya ebintu byo eby'obuwaŋŋanguse misana bonna nga balaba, ositule oveeyo kawungeezi bonna nga balaba, ogende ng'abantu bwe bava ewaabwe okugenda mu buwaŋŋanguse. Sima ekituli mu kisenge, oyiseemu ebintu bonna nga balaba. Bisitulire ku kibegabega kyo bonna nga balaba, obifulumye nga ekizikiza kikutte; olibikka ku maaso go oleme okulaba ettaka: kubanga nkutaddewo okuba akabonero eri ennyumba ya Isiraeri.” Awo ne nkola bwe ntyo nga bwe nnalagirwa: Emisana n'aggyamu ebintu byange eby'obuwaŋŋanguse, akawungeezi ne nsima ekituli mu kisenge, ne mbiggyamu nga ekizikiza kikutte, ne mbisitulira ku kibegabega kyange bonna nga balaba. Awo enkya ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri, ennyumba enjeemu, tebakugambye nti, ‘Okola ki?’ Bagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Omugugu guno gwa mulangira wa mu Yerusaalemi n'ennyumba yonna eya Isiraeri eri omwo Yogera nti, ‘Nze ndi kabonero kammwe: nga bwe nkoze, bwe batyo bwe balikolwa: baligobebwa okuva ewaabwe bagende mu busibe.’ N'omulangira ali mu bo alisitulira ku kibegabega kye omugugu gwe mu kizikiza ekikutte n'afuluma; balisima ekituli mu kisenge okuyisaamu ebintu okubifulumya: alibikka maaso ge, aleme okulaba gy'agenda. Era ndimusuulako ekitimba kyange, era ndimukwatira mu mutego gwange; ndimutwala e Babbulooni mu nsi ey'Abakaludaaya, naye taligiraba era eyo gy'alifiira. Ndisaasaanyiza eri empewo zonna abo bonna abamwetoolodde okumuyamba n'ebibiina bye byonna; era nditeekawo abantu abalibawondera okubatta. Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi. Naye ndirekawo ku bo batono abaliwona ekitala n'enjala ne kawumpuli; balyoke bejjuse nga bali eyo mu mawanga eby'emizizo byonna bye baakola. Kale balimanya nga nze Mukama.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, lya emmere yo ng'okankana, onywe amazzi ng'ojugumira era nga weeraliikirira; ogambe abantu ab'omu nsi, nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'ensi ya Isiraeri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amazzi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaabwe eriggyibwamu byonna ebirimu, kubanga abo bonna abatuulamu bakoze ebitasaana. Ebibuga kati ebirimu abantu birizikirizibwa, ensi erifuuka matongo; kale mulimanya nga nze Mukama.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mwogera nti, ‘Ennaku ziggwaayo era teri kwolesebwa kutuukirira?’ Kale bagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ndikomya olugero olwo, so tebaliddayo kulukozesa mu Isiraeri,’ naye bagambe nti Ennaku zinaatera okutuuka, buli kwolesebwa kwonna lwe kulituukirira. Kubanga tewalibaawo nate kwolesebwa kwa bulimba, newakubadde obulaguzi obunyumiriza mu nnyumba ya Isiraeri. Kubanga nze Mukama; ndyogera n'ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa; tekirirwisibwa nate; kubanga mu nnaku zammwe, ayi ennyumba enjeemu, mwe ndyogerera ekigambo, era ndikituukiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.” Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, laba, ab'omu nnyumba ya Isiraeri boogera nti,‘ Okwolesebwa kwalaba kwamu nnaku nnyingi ez'omu maaso, era alagula eby'ebiro ebikyali ewala.’ Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, yogera ku bannabbi ba Isiraeri aboogera, obagambe abo aboogera ebiva mu mutima gwabwe bo, nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama.’ Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ‘Zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe bo, so nga tebaliiko kye balabye!’ Ayi Isiraeri, bannabbi bo bali ng'ebibe ebiri mu bifulukwa. Temwambuse kuddaabiriza bituli ebyawagulwa, wadde okuddaabiriza olukomera lw'ennyumba ya Isiraeri, esobole okuyimirira mu lutalo ku lunaku lwa Mukama. Bolesebwa ebitaliyo, boogera eby'obulimba nga bagamba nti, ‘Mukama ayogedde,’ so nga Nze Mukama sibatumye, era basuubizizza abantu nti bye boogedde bijja kutuukirira. Temulabye kwolesebwa okutaliyo era temwogedde bulaguzi bwa bulimba, kubanga mwogera nti, ‘Mukama yayogedde,’ newakubadde nga mba soogedde?” Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Kubanga mwogedde ebitaliimu, era mulabye eby'obulimba, kaakano ndi mulabe wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda. Nja kubonereza bannabbi abalaba ebitaliyo ne balagula eby'obulimba: tebalituula mu kibiina ky'abantu bange abakuŋŋaana okuteesa mu abo abateesa, era tebaliwandiikibwa mu kiwandiiko ky'ennyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri. Kale mulimanya nga nze Mukama Katonda. Mazima bannabbi abo bawubisizza abantu bange, nga boogera nti, ‘Mirembe;’ so nga tewali mirembe. Abantu bwe bazimba ekisenge ekitagumye, bannabbi abo bakisiigako langi kinyirire. Bagambe abo abakisiigako langi nti kijja kugwa, wajja kutonnya enkuba ey'amaanyi, wagwe n'amayinja ag'omuzira amanene, wakunte ne kibuyaga omungi kibuyaga omungi alikimenya. Ekisenge bwe kirimala okugwa, abantu balibabuuza nti, ‘langi gye mwasiigako egasizza ki?’ Kale bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ndikimenyera ddala ne kibuyaga omungi nga ndiko ekiruyi; era ndireeta enkuba ey'amaanyi, nga erimu amayinja ag'omuzira amanene, nga ndiko obusungu, okukimalawo. Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako langi ne nkisuula wansi, omusingi gwakyo ne gusigala nga gweyerudde. Kirigwa, nammwe ne kibazikiriza mwenna. Kale mulimanya nga nze Mukama. Bwe ntyo bwe ndimalira ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako langi, era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako langi; be bannabbi ba Isiraeri abaalanga ebifa ku Yerusaalemi, nga bagamba nti baafuna okwolesebwa nga kinaaba mirembe, so nga tewali mirembe,” bw'ayogera Mukama Katonda. Naawe, omwana w'omuntu, teeka amaaso go ku bawala b'abantu bo, aboogera bye bayiiyizza okuva mu mutima gwabwe obagambe nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Zibasanze abakazi abakola ebikomo eby'obulogo ebyo ku mikono n'eby'okwebikirira eby'o ku mutwe, basobole okufuga obulamu bwabwe. Muliyigga obulamu bw'abantu bange, ne muwonya mwekka obulamu bwammwe okufa? Era mwanvumisa mu bantu bange olw'embatu eza sayiri n'olw'ebitole eby'emigaati okutta obulamu obutagwana kufa, n'okuwonya obulamu okufa obutagwana kuba bulamu, nga mulimba abantu bange abawulira eby'obulimba.” Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, ndi mulabe w'eby'obulogo byammwe bye mukozesa ku bulamu bw'abantu; ndibizikiriza, ne mbibaggyako bye mubadde mukozesa. Era n'eby'okwebikirira byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama. Kubanga muwuubaazizza n'eby'obulimba omutima gw'omutuukirivu nze gwe siwuubaazanga; ne munyweza emikono gy'omubi, aleme okudda okuva mu kkubo lye ebbi n'awona nga mulamu: kyemuliva mulema okuddayo okulaba nate okwolesebwa okutaliimu newakubadde okulagula obulaguzi: nange ndiwonya abantu bange mu mukono gwammwe; kale mulimanya nga nze Mukama.” Awo abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja gye ndi ne batuula mu maaso gange. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, abasajja bano batadde ebifaananyi mu mitima gyabwe, ne bibaleetera okukola ebibi. Nnyinza ntya abo okubaleka babeeko kye bambuuza? Kale yogera nabo obagambe nti bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri asinza ebifaananyi bye mu mutima gwe, ne yeereetako obutali butuukirivu, n'ajja eri nnabbi; nze Mukama ndimuddamu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli; ndyoke nneddize emitima gya b'ennyumba ya Isiraeri bonna abanneeyawulako olw'ebifaananyi byabwe.” Kale bagambe ab'ennyumba ya Isiraeri nti bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Mwenenye, mukyuke muleke ebifaananyi byammwe; era mukyuse amaaso gammwe muleke eby'emizizo byammwe byonna. Kubanga buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ow'okubannamawanga ababeera mu Isiraeri anvaako, n'asinza ebifaananyi mu mutima gwe, ne yeereetako obutali butuukirivu, n'ajja eri nnabbi okunneebuuzaako; nze Mukama nze ndimuddamu. Omuntu oyo ndimukyukira ne mmufuula ekyewuunyo, okuba akabonero n'olugero, era ndimuzikiriza wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga nze Mukama. Era oba nga nnabbi alirimbibwa n'ayogera ekigambo, nze Mukama nga nnimbye nnabbi oyo, era ndimugololerako omukono gwange, ne mmuzikiriza wakati mu bantu bange Isiraeri. Era balyetikka obutali butuukirivu bwabwe: obutali butuukirivu bwa nnabbi bulyenkanira ddala obutali butuukirivu bw'oyo amwebuuzaako; ennyumba ya Isiraeri ereme okuwaba nate okunvaako newakubadde okweyonoona nate n'okusobya kwabwe kwonna; naye babeerenga abantu bange, nange mbeerenga Katonda waabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, ensi bwe nnyonoona ne tebeera nneesigwa, nange ne ngigololerako omukono gwange ne ngima emmere gye yeetaaga, ne ngisindikira enjala, ne nengimalamu abantu era n'ensolo; newakubadde bano abasatu, Nuuwa, Danyeri ne Yobu, nga baali omwo, bandiwonyezza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe,” bw'ayogera Mukama Katonda. “ Oba singa nsindika ensolo enkambwe mu nsi ne zigyonoona, n'okuzika n'ezika, omuntu yenna n'atayinza kuyitamu olw'ensolo ezo; abasajja abo bonsatule newakubadde nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tebandiwonyezza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; wabula bo bokka bandiwonyezebbwa, naye ensi erizika.” “ Oba bwe ndireeta ekitala ku nsi ne njogera nti, ‘Ekitala, yita mu nsi;’ n'okumalamu ne ngimalamu abantu n'ensolo; abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebandiwonyeza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini be bandiwonyeewo bokka.” “Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eno, ne ngifukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi, n'okugimalamu ne ngimalamu abantu n'ensolo: Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandibadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebandiwonyeza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; bandiwonyeza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe.” Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Kale tekirisingawo okuba obubi, bwe ndisindika ebibonerezo byange ebizibu ebina ku Yerusaalemi: ekitala, enjala, ensolo enkambwe ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo? Era naye mulisigalamu abamu abaliwonawo, wamu n'abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala. Abo bwe balivaayo ne bajja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulitegeera ng'ekibonerezo kye mpadde Yerusaalemi kisaanidde. Bw'oliraba enneyisa yaabwe n'ebikolwa byabwe, olikakasa nga saabalanga bwereere okubatuusaako ebyo byonna bye nnakolera mu kyo, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “ Omwana w'omuntu, omuzabbibu gusinga gutya omuti gwonna, oba ettabi ery'ogumu ku miti egy'omu kibira? Bayinza okuguggyako emiti okukolamu ekintu kyonna? Oba abantu bayinza okuguggyangako enkondo okuwanikako ekintu kyonna? Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n'eruuyi ne wakati nga gusiriide, oba olina eky'omugaso ky'oyinza okugukolamu? Bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwaliko kye gugasa, kale omuliro nga gumaze okugwokya ne gusiriira, olwo lwe gunaaba n'omugaso? Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Nga bwe mpaayo omuzabbibu mu miti egy'omu kibira, okuba enku okwokebwa omuliro, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi. Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, okufuluma mu muliro, era omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibabonereza. Era ndizisa ensi kubanga tebabadde beesigwa, bw'ayogera Mukama Katonda.” Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, manyisa Yerusaalemi emizizo gyakyo, oyogere nti Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Yerusaalemi nti, Okuzaalibwa kwo n'ekika kyo bya mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli ye yali Kitaawo, ne nnyoko yali Mukiiti. Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kalira, era tewanaazibwa na mazzi okukutukuza; tewasiigibwa munnyo, newakubadde okubikkibwako obugoye. Tewali yakusaasira wadde okukwatirwa ekisa okukukolera ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wakyayibwa ku lunaku kwe wazaalirwako. Awo bwe nnali nga mpitawo, ne nkulaba nga weekulukuunya mu musaayi gwo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu: Ne nkukuza ne nkulabirira ng'ekimuli eky'omu nnimiro, n'osuumuka n'okulira ddala n'ofuuka omuwala omuyonjo alabika obulungi ennyo; n'osuna amabeere, n'okuza enviiri zo, naye ng'oli bwereere nga toyambadde. Awo bwe nnali nga mpitawo ne nkutunuulira, ne nkulaba ng'otuusiza ekiseera kyo eky'okufumbirwa, ne nkubikkako omunagiro gwange oleme kusigala ng'oli bwereere; nnakulayirira ne nkola naawe endagaano, bw'ayogera Mukama Katonda, n'ofuuka wange. Awo ne nkunaaza n'amazzi, ne nkunaalizaako ddala omusaayi gwo, ne nkusiigako amafuta. Ne nkwambaza olugoye olukoleddwa obulungi, ne nkunaanika engato ez'amaliba agasinga obulungi, ne nkubikako olugoye olwa liiri, ne nkusiba ekitambala ekirungi ennyo. Ne nkunaanika eby'obuyonjo, ne nteeka ebikomo ku mikono gyo n'omukuufu mu bulago bwo. Ne nkuteekako empeta ey'oku nnyindo, n'eby'oku matu ne nkutikkira n'engule ennungi ku mutwe gwo. Bw'otyo bwe wayonjebwa n'ebya zaabu n'ebya ffeeza; n'oyambazibwa ebyambalo bya bafuta ennungi ne liiri ebya kolebwa obulungi; walyanga emmere ey'obutta obulungi n'omubisi gw'enjuki n'amafuta. Walungiwa n'okamala n'oba nga muka kabaka. Ettutumu lyo ne libuna mu mawanga olw'obulungi bwo, obwali busukkiridde lw'ebyo bye nakukolako. bw'ayogera Mukama Katonda.” “Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, n'okozesa ettutumu lyo n'okola obwenzi, n'okabawaliranga ku buli muntu eyayitangawo. Era watoola ku byambalo byo, n'otimba ebifo ebigulumivu ebyayonjebwa n'amabala agatali gamu, n'oyendera ku byo mu ngeri etabangawo era etaliddamu kubaawo. Ate era waddira eby'obuyonjo bwo ebyange ebirungi ebya zaabu n'ebya ffeeza bye nakuwa ne weekoleramu ebifaananyi eby'abasajja n'oyenda ku byo. N'oddira ebyambalo byo eby'akolebwa obulungi n'obibikkako n'oteeka amafuta gange n'obubaane bwange mu maaso gaabyo. Era n'emmere yange gye nnakuwa, ey'obutta obulungi n'amafuta n'omubisi gw'enjuki, bye nnakuliisanga, n'okuteeka n'obiteeka mu maaso gaabyo okuba evvumbe eddungi, ne biba bwe bityo, bw'ayogera Mukama Katonda. Era nate waddira abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, be wanzaalira, n'obawaayo okuba ssaddaaka eri ebifaananyi byo okuliibwa. Obwenzi bwo kyali kigambo kitono, n'ogattako n'okutta abaana bange, n'obawaayo ng'obayisa mu muliro eri byo? Mu by'emizizo ebyo byonna ne mu bwenzi bwo bwonna tewajjukira nnaku za buto bwo, bwe wali obwereere nga tobikkiddwako, era nga weekulukuunya mu musaayi gwo. Mukama Katonda agamba nti, (Zikusanze, zikusanze! ng'omaze okukola ebibi ebyo byonna). Weezimbidde ekifo ekikulumbala ne weekolera ekifo ekigulumivu mu buli luguudo. Ozimbye ekifo kyo ekigulumivu ku buli luguudo we lutandikira, n'ojaajaamiza omwo obulungi bwo, n'owaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo. Era oyenze ku Bamisiri, baliraanwa bo abakaba ennyo, n'oyongera ku bwenzi bwo okunsunguwaza. Kale kaakano nkugololeddeko omukono gwange okukubonereza, era nkendeezezza emmere yo eya bulijjo, ne nkuwaayo eri abakukyawa bakukole kye bagala, abawala b'Abafirisuuti abakwatiddwa ensonyi olw'ebikolwa byo eby'obukaba. Era n'oyenda ku Basuuli, kubanga tewayinza kumatira, weewaawo, oyenze ku bo, era nabo ne batakumatiza. Era nate weeyongera okwenda ku Bakaludaaya, ensi y'abasuubuzi, era n'osigala nga tomatidde. Omutima gwo nga munafu! bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga okola bino byonna, ebikolebwa omukazi ow'amawaggali omwenzi; kubanga ozimba ebifo byo ebikulumbala buli luguudo we lutandikira, n'okola ebifo byo ekigulumivu mu buli luguudo; so nno tewafaanana ng'omukazi omwenzi kubanga wanyoomanga empeera. Oli mwenzi alekaawo bba n'ayenda ku basajja abalala abatambuze. Abakazi bonna abenzi babawa ebirabo: naye ggwe owa ebirabo byo baganzi bo bonna, n'obagulirira bajje gy'oli okuva mu njuyi zonna olw'obwenzi bwo. Era oli wanjawulo ku bakazi abalala abenzi, kubanga tewali akuwaliriza ggwe okwenda, wabula ggwe ogulirira so toweebwa mpeera kyova obeera ow'enjawulo!” “Kale, ayi omwenzi, wulira ekigambo kya Mukama. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga weeyambulamu engoye zo n'oyanika obwereere bwo olw'obwenzi bwo bwe wayenda ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonna eby'emizizo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa; kale, laba, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, n'abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa; ndibakuŋŋaanya okulwana naawe enjuyi zonna, era ndibabikkulira obwereere bwo, bonna balabe obwereere bwo. Era ndikusalira omusango ng'abakazi abatta obufumbo ne bayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; era ndikuleetako omusaayi ogw'ekiruyi n'obuggya. Era ndikuwaayo mu mukono gwabwe, kale balisuula ekifo kyo ekikulumbala ne bamenyaamenya ebifo byo ebigulumivu; era balikwambula ebyambalo byo, ne banyaga eby'obuyonjo byo ebirungi: kale balikuleka ng'oli bwereere ng'obikkuddwako. Era balikulinnyisaako ekibiina, ne bakukuba amayinja, ne bakufumitira ddala n'ebitala byabwe. Era balyokya ennyumba zo omuliro ne bakubonereza ng'abakazi bangi balaba; era ndikulekesaayo obwenzi, so toliddayo kusasula baganzi bo mpeera. Bwe ntyo bwe ndikumalirako ekiruyi kyange, n'obuggya bwange bulikuvaako, ne ntereera ne siddamu kukusunguwalira. Kubanga tojjukiranga nnaku za buto bwo, naye n'onnyiiza mu bino byonna; nange kyendiva nkuvunaana olw'ebyo byonna, bw'ayogera Mukama Katonda: so tolyongera bukaba obwo ku mizizo gyo gyonna.” “Buli muntu agera engero anaakugereranga olugero luno ng'agamba nti, ‘Nga nnyina, ne muwala we bw'atyo.’ Oli muwala wa nnyoko atamwa bba n'abaana be; era oli wa luganda ne baganda bo abatamwa babbaabwe: nnyammwe yali Mukiiti, ne kitammwe yali Mwamoli. Ne mukulu wo ye Samaliya abeera ku mukono gwo ogwa kkono, ye ne bawala be: ne mwana wannyo atuula ku mukono gwo ogwa ddyo ye Sodomu ne bawala be. Era naye totambuliranga mu makubo gaabwe, so tokolanga ng'emizizo gyabwe bwe giri; naye ekyo ng'okiyita kigambo kitono nnyo, n'osinga bo okuba omukyamu mu makubo go gonna. Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaakola nga ggwe bw'okoze. Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza, ye ne bawala be baali ba malala kubanga baalina emmere nnyingi n'okwesiima, naye ne batafa ku baavu abaali mu bwetaavu. Era baalina ekitigi, ne bakola eby'emizizo mu maaso gange: kyennava mbaggyawo nga bwe nnasiima. So ne Samaliya takolanga kitundu kya ku bibi byo; naye ggwe wayongera ku mizizo gyo okukira bo, n'oweesa obutuukirivu baganda bo olw'emizizo gyo gyonna gyewakola. Era naawe beerako ensonyi zo ggwe, kubanga osaze omusango baganda bo okukusinga; olw'ebibi byo bye wakola eby'emizizo okukira bo kyebavudde bakusinga obutuukirivu: weewaawo, era swala obeereko ensonyi zo kubanga oweesezza baganda bo obutuukirivu. Era ndikomyawo obusibe bwabwe, obusibe bwa Sodomu ne bawala be, n'obusibe bwa Samaliya ne bawala be, n'obusibe bw'abasibe bo abali wakati mu bo: olyoke obeereko ensonyi zo ggwe, era okwatibwe ensonyi olw'ebyo byonna bye wakola, kubanga obasanyusa. Era baganda bo, Sodomu ne bawala be, balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, naawe ne bawala bo mulidda mu bukulu bwammwe obw'edda. Kubanga muganda wo Sodomu akamwa ko tekamwatulanga ku lunaku olw'amalala go; obubi bwo nga tebunnabikkulwa, nga mu biro abawala ab'e Busuuli lwe baavuma n'abo bonna abamwetoolodde, abawala aba Bafirisuuti abakugirira ekyejo enjuyi zonna. Wabaako obukaba bwo n'emizizo gyo, bw'ayogera Mukama. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikukolera ddala nga bw'okoze, ggwe eyanyooma ekirayiro n'omenya endagaano. Era naye nze ndijjukira endagaano gye nnalagaana naawe mu nnaku ez'obuto bwo, era ndinyweza eri ggwe endagaano eteriggwaawo. Kale n'olyoka ojjukira amakubo go, n'okwatibwa ensonyi, bw'oliweebwa baganda bo, baganda bo abakulu ne baganda bo abato: era ndikubawa okuba abawala, naye si lwa ndagaano yo. Era ndinyweza endagaano yange naawe; kale olimanya nga nze Mukama: Bwendikusonyiwa byonna bye wakola, olijjukira n'okwatibwa ensonyi, n'olemwa n'okubaako kyoyogera, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, leeta ekikokko ogerere ennyumba ya Isiraeri olugero; oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Empungu ennene erina ebiwaawaatiro ebinene n'ebiwaawa ebiwanvu, ng'erina ebyoya bingi, eby'amabala agatali gamu, nejja ku Lebanooni, n'etwala obusongezo bw'omuvule: yanogako amasanso gaagwo amato agakomererayo, n'eguggyayo n'egutwala mu nsi ey'obusuubuzi, ne gusimba mu kibuga ky'abasuubuzi. Era ne twala ne ku nsigo ey'omu nsi, n'egisiga mu ttaka eggimu awali amazzi amangi n'emera n'eba ng'omusafusafu. Ne gumera ne guba muzabbibu ogulanda omumpimpi, amatabi gaagwo ne gatunula waggulu empungu eyo gy'eri, emirandira ne gisimba wansi mu ttaka. Negufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi, ne gujjula amakoola. Era waaliwo n'empungu ennene endala, eyalina ebiwaawaatiro ebinene n'ebyoya bingi, awo olwatuuka, omuzabbibu ogwo ne guweta emirandira gyagwo okugiggya gye gwali okugiza eri empungu eyo, era ne gukyusa n'amatabi gaagwo gye guli egufukirirenga amazzi. Gwasimbibwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, gusuule amatabi era gubale ebibala, gubeerenga omuzabbibu omulungi. Yogera nti bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n'amatabi gaagwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetaagisa maanyi mangi oba abantu abangi okugusigulayo. Bwe gulisimbulwa gulirama? Teguliwotokera ddala, embuyaga ez'ebuvanjuba bwe zirigufuuwa? Gulikalira mu kifo we gwakulira.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Gamba nno ennyumba enjeemu nti, ‘Temumanyi bigambo bino kye bitegeeza?’ Babuulire nti kabaka w'e Babbulooni yajja e Yerusaalemi n'awamba kabaka waayo n'abakungu baayo n'abatwala e Babbulooni. Era n'addira omu ku balangira n'akola naye endagaano, era n'amulayiza okuba omwesigwa gy'ali. N'aggyayo abantu ab'amaanyi ab'omu nsi eyo, obwakabaka bukkakkane, buleme okwegulumiza, naye bukuume endagaano busobole okunywera. Naye n'amujeemera ng'atuma ababaka be mu Misiri, bamuwe embalaasi n'abantu bangi. Aliraba omukisa? aliwona oyo akola ebifaanana bwe bityo? Alimenya endagaano, n'awona? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima alifiira mu Babbulooni, mu nsi ya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n'amenya endagaano gye yakola naye. Falaawo n'eggye lye ery'amaanyi n'ekibiina ekinene tebalisobola kumuyamba mu lutalo, ab'e Babbulooni bwe balituuma ebifunvu ne bazimba ebigo, okuzikiriza abantu abangi. Kubanga yanyooma ekirayiro ye yennyini kye yakola, n'amenya endagaano ey'okuba omwesigwa, n'akola ebyo byonna, kyaliva tawona. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Nga bwe ndi omulamu, mazima ndimubonereza olw'ekirayiro kyange kye yanyooma n'olw'endagaano yange gye yamenya. Ndimutega ne musuulako ekitimba kyange, ne mmutwala e Babbulooni, ne mmubonerereza eyo olw'ekyonoono kye kye yannyonoona. Ab'omu ggye bonna abaliba badduka, baligwa n'ekitala, n'abo abalisigalawo balisaasaanyizibwa eri empewo zonna: kale mulimanya nga nze Mukama nze njogedde.” Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “ Era nditwala ku busongezo obwa waggulu obw'omuvule ne mbusimba; ndinogako ku masanso gaagwo amato agakomererayo essanso erimu eggonvu, era ndirisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu: ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri kwe ndirisimba: kale lirisuula amatabi ne libala ebibala, ne guba omuvule omulungi: era wansi waagwo wanaabeeranga ennyonyi zonna ez'ebiwaawaatiro byonna; mu kisiikirize eky'amatabi gaagwo we zinewogomanga. N'emiti gyonna egy'omu ttale girimanya nga nze Mukama nkakkanyizza omuti omuwanvu, era nga ngulumizizza omuti omumpi, era nga nkazizza omuti ogwamera, era nga njezezza omuti omukalu: nze Mukama nkyogedde era ndikikola.” Ekigambo kya Mukama kyanjijira nate nga kyogera nti, “Mubadde mutya n'okugera ne mugerera olugero luno ensi ya Isiraeri nga mwogera nti, ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyunyuntula, amannyo g'abaana ne ganyenyeera?’ Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isiraeri. Laba, emmeeme zonna zange; emmeeme ya kitaawe, n'emmeeme y'omwana zonna zange, oyo anaakolanga ekibi y'alifa. Naye omuntu bw'aba omutuukirivu n'akola ebyalagirwa ebituufu; natasinza bifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, n'atalya ebiweereddwayo ku nsozi, natayonoona mukazi wa munne, natasemberera mukazi mu biseera bye eby'okweyawula buli mwezi; natalyazaamaanya muntu yenna, naye naddizanga omwewoze omusingo gwe, natanyaga muntu yenna, n'awanga omuyala emmere ye, n'ayambaza n'abali obwereere; ataawolanga lwa magoba, era nga takkiriza kutwala ezisukka mu ezo ze yawola, eyeewala okukola ekibi, era asala emisango gy'abantu mu bwenkanya, eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga ebiragiro byange, n'akolanga eby'amazima: oyo ye mutuukirivu, talirema kuba mulamu, bw'ayogera Mukama Katonda. Naye omuntu oyo bw'alizaala omwana omunyazi, ayiwa omusaayi, era akola ebyo byonna, atakola ebyo byonna ebimugwanidde, naye nnaliiranga eby'omuzizo ku nsozi, n'ayonoona mukazi wa munne, n'alyazaamaanya omwavu n'eyeetaaga, n'abba, n'ataddiza musingo eyamwewolako, n'asinzanga ebifaananyi, n'akola eby'emizizo, eyawolanga olw'amagoba, era eyatwalanga ensimbi ezisuka mu ezo ze yawola, oyo aliba mulamu? Taliba mulamu: akoze eby'emizizo bino byonna: talirema kufa; omusaayi gwe guliba ku ye. Naye bw'alizaala omwana, nnalaba ebibi byonna ebya kitaawe bye yakola, ye n'atya n'atakola ebifaanana bwe bityo, nataliira ku nsozi, natayimusanga maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, natayonoonanga mukazi wa munne, natalyazaamaanya muntu yenna, natasingirwa kintu, natabba, naye n'awanga omuyala emmere, naayambanga ali obwereere, n'atakolanga bubi omwavu, n'atakkirizanga magoba newakubadde ensimbi ezisukiridde kwezo zeyawola, nnaakwatanga ebiragiro n'amateeka gange, oyo talifa lwa butali butuukirivu bwa kitaawe, naye aliba mulamu. Naye kitaawe alifiira mu butali butuukirivu bwe kubanga yalyazaamanya, n'anyaga muganda we n'obukambwe, n'akola ebyo ebitali birungi mu bantu be. Era naye mwebuuza nti, Omwana kiki ekimulobera okubonaabona olw'obutali butuukirivu bwa kitaawe? Omwana bw'aba nga akoze ebyalagirwa ebituufu, era ng'akutte amateeka gange gonna, n'agatuukiriza, ye aliba mulamu. Emmeeme eyonoona y'erifa: omwana talibaako butali butuukirivu bwa kitaawe, so ne kitaawe talibaako butali butuukirivu bwa mwana we; obutuukirivu obw'omutuukirivu buliba ku ye, n'obubi obw'omubi buliba ku ye. Naye omubi bw'akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebyalagirwa ebituufu, aliba mulamu, talifa. Tewaliba ku byonoono bye bye yakola ebirijjukirwa ku ye: alibeera mulamu mu butuukirivu bwe bwe yakola. Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi? Bw'ayogera Mukama Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu? Naye omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu, n'akola ng'emizizo gyonna bwe giri omuntu omubi gy'akola, aliba mulamu? Tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa: mu kyonoono kye ky'ayonoonye ne mu kibi kye ky'akoze, mu ebyo mw'alifiira.” “Era naye mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Muwulire nno, ayi ennyumba ya Isiraeri: ekkubo lyange si lye lyenkanankana? Amakubo gammwe si ge gatenkanankana? Omuntu omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu, n'afiira omwo; mu butali butuukirivu bwe bw'akoze mw'alifiira. Nate omuntu omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe bw'akoze n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga aliwonya emmeeme ye okufa. Kubanga alowooza n'akyuka n'alekerawo okukola ebibi, aliba mulamu, talifa. Era naye ennyumba ya Isiraeri boogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Ayi ennyumba ya Isiraeri, amakubo gange si ge genkanankana? Amakubo gammwe si ge gatenkanankana? Kyendiva mbasalira omusango, ayi ennyumba ya Isiraeri, buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, bw'ayogera Mukama Katonda. Mukomewo, mukyuke muve mu byonoono byammwe byonna; kale obutali butuukirivu buleme okubazikiriza. Musuule wala ebyonoono byammwe byonna bye mwonoonye; mufune omutima omuggya n'omwoyo omuggya: kubanga kiki ekibaagaza okufa, ayi ennyumba ya Isiraeri? Kubanga sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw'oyo afa, bw'ayogera Mukama Katonda: kale mukyuke mube balamu.” “Era nate n'aŋŋamba nti, tandika okukungubagira abalangira ba Isiraeri, ogambe nti, Nnyoko yali mpologoma enkazi mu mpologoma, yagalamiranga wakati mu mpologoma ento n'erabirira abaana baayo. N'ekuza omu ku baana baayo n'aba mpologoma envubuka, n'eyiga okukwata omuyiggo, n'erya abantu. Amawanga gagiwulira; ne gagikwasa mu bunnya bwayo ne bagisikayo n'amalobo ne bagitwala mu nsi y'e Misiri. Awo nnyina waayo n'erinda, bwe yalaba tewakyali ssuubi lyonna, n'eryoka eddira omwana gwayo omulala, n'egufuula empologoma ento. Bwe yakula n'etambulatambula mu mpologoma, n'eyiga okukwata omuyiggo, n'okulya abantu. N'emenyamenya amayumba gaabwe, n'ezisa ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonna ebyalimu, ne batya olw'okuwuluguma kwayo. Awo amawanga ne gagirumba enjuyi zonna nga gayima mu masaza: ne bagisuulako ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu bunnya bwabwe. Ne bagisiba mu mutego n'amalobo, ne bagitwala eri kabaka w'e Babbulooni; ne bagikuumira mu bigo, eddoboozi lyayo lireme kuddamu kuwulirirwa ku nsozi za Isiraeri.” “Nnyoko yali ng'omuzabbibu mu nnimiro ogwasimbibwa okumpi n'awali amazzi, negujjula amatabi ne gubala olw'amazzi amangi. Amatabi gaagwo gaali magumu, ne gatemwamu emiggo gy'obwakabaka ne giweebwa abaafuganga. Gwali muwanvu ne guyitamu okusinga emiti emirala, ne gulengerwa olw'obuwanvu bwagwo, n'olw'amatabi amangi. Naye gwasigulibwa n'ekiruyi ne gusuulibwa wansi, embuyaga ez'ebuvanjuba ne zigukaza, ebibala byagwo ne biggwako, n'amatabi gaakwo amagumu ne gakala, era ne gwokebwa omuliro. Kaakano gusimbiddwa mu nsi enkalu ey'eddungu. Omuliro gwava ku limu ku matabi gaagwo, ne gwokya ebibala byagwo, tegukyalina ttabi ggumu na limu, liyinza kukolwamu muggo gw'obwakabaka ogw'okufuga. Kuno kukungubaga, era kunaaba kukungubaga.” Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omusanvu, mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'ekkumi, abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja okubuuza Mukama ne batuula mu maaso gange. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, yogera n'abakadde ba Isiraeri obagambe nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ‘Muzze okunneebuuzaako? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, temujja kunneebuuzaako.’ Onoobasalira, omwana w'omuntu, onoobasalira omusango? Bategeeze eby'emizizo bajjajjaabwe bye bakola, obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe nneeroboza Isiraeri ne nnyimusa omukono gwange eri ezzadde ery'ennyumba ya Yakobo, ne nneemanyisa eri bo mu nsi y'e Misiri, ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe.’ Ku lunaku olwo nnabalayirira okubaggya mu nsi y'e Misiri, okubatwala mu nsi gye nnali mbategekedde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, esinga ensi endala zonna ekitiibwa. Ne mbagamba nti, Musuule eby'emizizo byonna ebibasikiriza, era temweyonoonyesanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; nze Mukama Katonda wammwe. Naye ne banjeemera ne bagaana okumpuliriza; tebaasuula bya mizizo ebyali bibasikiriza, tebaaleka bifaananyi bya Bamisiri. Kale ne nteekateeka okubamalirako ekiruyi n'obusungu bwange eyo wakati mu nsi y'e Misiri. Naye sakikola olw'obutavumisa linnya lyange mu b'amawanga mwe baali, mwe nnabamanyisiza nti nja kubaggya mu nsi y'e Misiri. Awo ne mbaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbatwala mu ddungu. Ne mbawa ebiragiro byange, ne mbayigiriza amateeka gange, omuntu bw'abikola aliba mulamu. Era nate ne mbawa Ssabbiiti zange, okuba akabonero wakati wange nabo, balyoke bamanye nga nze Mukama abatukuza. Naye ennyumba ya Isiraeri ne banjeemera mu ddungu: tebaatambuliranga mu mateeka gange, ne batakwata biragiro byange, ebyandibawadde obulamu, ne Ssabbiiti zange ne bazoonoona nnyo; kale ne nteekateeka okubamalirako ekiruyi kyange mu ddungu okubamalawo. Naye ne nkola ekigwanira erinnya lyange, lireme okuvumibwa mu maaso g'amawanga agaalaba nga mbaggyayo. Era ne mbalayirira mu ddungu nga sigenda kubatwala mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, esinga ensi endala zonna ekitiibwa; kubanga baagaana ebiragiro byange, ne batatambuliranga mu mateeka gange ne boonoonanga Ssabbiiti zange: kubanga omutima gwabwe gwagobereranga bifaananyi byabwe. Naye era nnabasaasira ne sibazikiririza mu ddungu okubamalirawo ddala. Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti, Temutambuliranga mu mateeka ga bajjajjammwe, era temukwatanga biragiro byabwe, era temweyonoonesanga n'ebifaananyi byabwe: nze Mukama Katonda wammwe; mutambulirenga mu mateeka gange, mukwatenga ebiragiro byange, era mutukuzenga essabbiiti zange; era zinaabanga kabonero wakati wange nammwe, mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe. Naye abaana ne banjeemera; tebaatambulira mu mateeka gange, tebaakwata biragiro byange, ebyandibawadde obulamu, baayonoona ne Ssabbiiti zange; kale ne ŋŋamba okubamalirako ekiruyi n'obusungu bwange nga bali eyo mu ddungu. Naye era saakikola, nneme okuvumaganya erinnya lyange mu maaso g'amawanga mwe nnali mbaggye. Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbatataaganyiza mu nsi nnyingi; kubanga baali tebagondedde biragiro byange, tebakutte mateeka gange, era nga boonoonye essabbiiti zange, n'amaaso gaabwe gaali nga gagoberera ebifaananyi bya bajjajjaabwe. Kyennava mbawaayo ne bagoberera amateeka agatali malungi, n'ebiragiro ebitayinza kubawa bulamu; ne mbaleka beyonoonese n'ebirabo byabwe bo, bwe bawaangayo mu muliro bonna abaggulanda, ndyoke mbabonereze balyoke bamanye nga nze Mukama.” “Kale, omwana w'omuntu, yogera n'ennyumba ya Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Era ne mu kino bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola. Kubanga bwe nnabaleeta mu nsi gye nnabalayirira okubawa, ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti omuziyivu, ne baweeranga eyo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, gye baanyookerezanga eby'akaloosa byabwe, n'ebiweebwayo eby'okunywa bye baayiwangayo. Ne mbabuuza nti, Kifo ki ekyo ekigulumivu gye mugenda bulijjo? Okuva kw'olwo ne kiyitibwanga Bama ne leero. Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Nammwe mwagala kweyonoona nga bajjajjammwe, nga mugoberera eby'emizizo gyabwe? era bwe muwaayo ebirabo byammwe, ne muwaayo batabani bammwe mu muliro, ne mweyonoonesa n'ebifaananyi byammwe, kale nnyinza ntya okubakkiriza okunneebuuzaako, ayi ennyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe.” “N'ekyo kye mulowooza nti munaabanga amawanga amalala ag'omu nsi ne musinza emiti n'amayinja tekijja kubaawo n'akatono.” “Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima ndiba kabaka wammwe mbafugenga n'obuyinza n'amaanyi amangi mbamalireko ekiruyi kyange. Era ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, n'omukono ogw'amaanyi, nga nzijjudde ekiruyi. Ndibaleeta mu ddungu ery'omu mawanga, era ndibasalira omusango nga tutunuuliganye maaso ku maaso. Nga bwe nnawoza ne bajjajjammwe mu ddungu ery'ensi y'e Misiri, bwe ntyo bwe ndiwoza nammwe, bw'ayogera Mukama Katonda. Era ndibayisa wansi w'omuggo, era ndibayingiza mu busibe bw'endagaano; era ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abansobya; ndibaggya mu nsi mwe batuula, naye tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri: kale mulimanya nga nze Mukama. Nammwe, ayi ennyumba ya Isiraeri, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mugende muweereze buli muntu ebifaananyi bye, era n'oluvannyuma, bwe mutalikkiriza kumpulira: naye erinnya lyange ettukuvu temuliryonoona nate n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe. Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, okwo ennyumba yonna eya Isiraeri, bo bonna, kwe balimpeerereza mu nsi; eyo gye ndibakkiririza, era eyo gye ndibasalirira ebiweebwayo byammwe n'ebibala ebibereberye eby'ebitone byammwe wamu n'ebintu byammwe byonna ebitukuvu. Ndibakkiriza ng'akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa; kale nditukuzibwa mu mmwe mu maaso g'amawanga. Awo mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nnalayirira okugiwa bajjajjammwe. Awo mulijjuukirira eyo amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe byonna bye mwegwagwawaza nabyo; era mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola. Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'erinnya lyange, si ng'amakubo gammwe amabi bwe gali, so si ng'ebikolwa byammwe ebikyamu bwe biri, ayi mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, tunula obukiikaddyo obabulire ebiribatuukako, era olange ne birituuka ku kibira ky'obukiikaddyo. ogambe ekibira ky'obukiikaddyo nti, Wulira ekigambo kya Mukama; bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuma omuliro mu ggwe ne gwokya buli muti ogumera oguli mu ggwe, na buli muti mukalu: ennimi ez'omuliro tezirizikizibwa, guliranda okuva obukiikaddyo okutuuka obukiikakkono, gwokye buli omu. Kale abantu bonna baliraba nga nze Mukama, nze ngukumye: tewaliba kiyinza kuguzikiza” Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! banjogerako nti, “ Oyo si mugezi wa ngero? ” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “ Omwana w'omuntu, tunula e Yerusaalemi, oyogere ekigambo ku bifo ebitukuvu, olabule ensi ya Isiraeri; ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala abantu abatuukirivu n'ababi. Kale kubanga ndikumaliramu ddala abatuukirivu n'ababi, ndisowolayo ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo okulwanyisa abantu bonna okuva e bukiikaddyo okutuuka e bukiikakkono. Kale abantu bonna balimanya nga, nze Mukama, nze nsowodde ekitala okuva mu kiraato kyakyo era sirikizzaamu nate. Kale ggwe omwana w'omuntu, ssa ekikkowe, ng'omuntu alina obuyinike obungi mu mutima, ssa ekikkowe bw'otyo nga bonna balaba. Kale olunaatuuka bwe banaakubuuza nti, ‘Lwaki ggwe okussa ekikkowe?’ onoobaddamu nti, ‘Olw'amawulire ge mpulidde, ag'ebyo ebijja: buli mutima gulisaanuuka, n'emikono gyonna giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amaviivi gonna galinafuwa ne gafuuka ng'amazzi, bijja, era birituukirira, bw'ayogera Mukama Katonda.’ ” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, langa ogambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ekitala, ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa, kiwagaddwa okutta, kiziguddwa kimyanse ng'enjota: kale tunaasanyuka? Omwana wange onyoomye buli kibonerezo n'okulabulwa. Ekitala kiweereddwayo okuzigulwa kiryoke kikozesebwe, ekitala kiwagaddwa, kiziguddwa, kiryoke kiweebwe omussi. Kaaba era wowoggana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo nga weesasabaga. Kubanga waliwo okusala omusango; era kiriba kitya omuggo nagwo ogugayibwa bwe guliba nga tegukyaliwo?” Bw'ayogera Mukama Katonda. “Kale ggwe, omwana w'omuntu, langa okube mu ngalo; leka ekitala kikozesebwe ogwokubiri oba ogwokusatu, ekitala kya kutta, okutta okunene, nga kiyingira mu bisenge byabwe. Ntadde omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonna, emitima gyabwe girisaanuuka, balyesitala ne bagwa, kimyansa ng'enjota, kisongoddwa okutta. Kale tema ku ludda olwa ddyo; tala, oteme ku ludda olwa kkono, yonna yonna amaaso go gye goolekera. Nange ndikuba mu ngalo, n'ekiruyi kyange kirikkakkana, nze Mukama nkyogedde.” Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti, “ Omwana w'omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w'e Babbulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu: olambe ekifo, amakubo ago we geegattira. Olage ekkubo ekitala mwe kinaayita okutuuka mu kibuga Labba eky'Abamoni, n'eddala erituuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko ebigo ebigumu. Kubanga kabaka w'e Babbulooni ayimiridde mu masaŋŋanzira, amakubo gombi we geegattira okusobola okuzuula ekkubo ly'anakwata, azunzazunza obusaale, yeebuuza ku baterafi, n'akebera n'ekibumba. Mu mukono gwe ogwa ddyo mulimu obulaguzi obw'e Yerusaalemi, okusimba ebitomera, okulanga okutta, okuyimusa eddoboozi n'okwogerera waggulu, okusimba ebitomera ku miryango, okutuuma ebifunvu, okuzimba ebigo. Era buliba gyebali ng'obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye buzze okubajjukiza obutali butuukirivu bwabwe, balyoke bakwatibwe.” “Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga mujjukiza obutali butuukirivu bwammwe, okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n'okulabika ne birabikira mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mubinzijukiza buli kiseera, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe. Naawe, ayi ggwe omubi omukulu wa Isiraeri, olunaku lwo lutuuse, ofune okubonenerezebwa okusembayo. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, otikkuleko engule, kubanga ebintu tebirisigala nga bwe biri. Abanyoomebwa baligulumizibwa, n'abeegulumiza balitoowazibwa. Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika, tekirizzibwawo okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa.” “Naawe, omwana w'omuntu, langa oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n'okuvuma kwabwe nti, Ekitala, ekitala kisowoddwa okutta, kiziguddwa okuzikiriza, era kimyansa ng'enjota. Okulabikirwa kwe mufuna si kwa mazima, ne bye babalagula bya bulimba, ekitala kiriteekebwa ku bulago bwa babi ab'okuttibwa, olunaku lwabwe lutuuse, bafune okubonerezebwa okusembayo. Kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watonderwa, mu nsi mwe wazaalirwa, mwe ndikusalirira omusango. Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikiriza. Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliyibwa mu nsi yo, tolijjukirwa nate, kubanga nze Mukama nkyogedde.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna. Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo, ekyonoonese olw'okukola ebifaananyi, ekiseera kyakyo kituuse. Ozzizza omusango ogw'omusaayi gw'oyiye, era ogwagwawazibbwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okusekererwa eri ensi zonna. Abo abakuli okumpi, n'abo abakuli ewala balikukudaalira, ggwe alina erinnya ery'obugwagwa era ajjudde okusasamala. Laba, abakungu ba Isiraeri, buli omu nga akozesa obuyinza bwe okuyiwa omusaayi. Mu ggwe mwe baanyoomeranga bakitaabwe ne bannyaabwe; mu ggwe mwe baajogeranga omugenyi, era mu ggwe mwe baalyazaamaanyizanga bamulekwa ne bannamwandu. Munyooma ebintu byange ebitukuvu, ne mwonoonanga Ssabbiiti zange. Abasajja abawaayiriza baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi: ne mu ggwe mwe baaliiranga ku nsozi: wakati mu ggwe mwe baakoleranga eby'obukaba. Mu ggwe mwe babikkulidde ku bwereere bwa bakitaabwe: mu ggwe mwe bakwatira abakazi olw'empaka abali mu kweyawula kwabwe olw'obutaba balongoofu. Era waliwo akoze eky'omuzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obukaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwannyina muwala wa kitaawe. Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba agasukkiridde era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba mu ngeri ey'obukumpanya, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda. Kale nno ndikuba mu ngalo olw'amagoba go agatali ga mazima ge wafuna n'omusaayi ogwayibwa wakati mu ggwe. Olowooza obuvumu bwo bulibeerawo oba emikono gyo giriba n'amaanyi, mu nnaku mwe ndikubonerereza? Nze Mukama nkyogedde n'okukola ndikikola. Era ndikusaasaanyiza mu mawanga, ne nkutaataaganyiza mu nsi nnyingi; era ndikumalamu obutali bulongoofu bwo. Awo oliggwaamu ekitiibwa mu maaso g'amawanga, n'omanya nga nze Mukama.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri efuuse amasengere gye ndi: bonna bikomo na masasi na byuma na bbaati wakati mu kikoomi; bo masengere ga ffeeza. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse masengere, laba, kyendiva mbakuŋŋaanya mu Yerusaalemi wakati. Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omuliro okubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndikuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa. Weewaawo, ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro ogw'obusungu bwange, nammwe mulisaanuuka wakati mu kyo. Ng'effeeza bw'esaanuukira wakati mu kyoto, nammwe bwe mulisaanuukira bwe mutyo wakati mu kyo; kale mulimanya nga nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, kigambe nti Ggwe oli nsi eteri noongoose, era eteritonnyebwako nkuba ku lunaku olw'ekiruyi. Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo: balidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu. Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange, era boonoonye ebintu byange ebitukuvu: tebaawula bitukuvu ku bitali bitukuvu, tebayigiriza bantu kwawulamu birongoofu ku bitali birongoofu, era tebassaayo mwoyo kukuuma Ssabbiiti zange, ne bandeetera obutassibwamu kitiibwa. Abakungu baamu bali ng'emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo, batta abantu ne babazikiriza, balyoke bafune amagoba agatali ga mazima. Era bannabbi baamu babikkirira ebibi ebyo, ng'abantu bwe babikka ekisenge nga bakisiigako langi. Babalimba n'okwolesebwa okukyamu n'okuwa obunnabbi obw'obulimba, nga boogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,’ so nga Mukama tayogedde. Abantu ab'omu nsi bajooga bannaabwe, ne babanyagako ebyabwe, banyigiriza omwavu n'eyeetaaga, era bajooga munnaggwanga awatali kumusaasira. Nnanoonya omusajja mu bo ayinza okuddaabiriza ekisenge, n'ayimirira mu maaso gange mu kituli ekikubiddwa mu kisenge, awolereze ensi eyo nneme okugizikiriza, naye ne ssiraba n'omu. Kyenvudde mbayiwako ekiruyi kyange, era nja kubasaanyawo n'omuliro ogw'obusungu bwange, nga mbalanga bye bakoze. bw'ayogera Mukama Katonda.” Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, waaliwo abakazi babiri, nnyaabwe omu, ne bayenda mu Misiri; baayenda mu buto bwabwe: eyo amabeere gaabwe gye gaanyigirizibwa, ne bakoma okuba embeerera. Omukulu nga ayitibwa Okola, ne muto we nga ye Okoliba, ne baba bange ne bazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. N'amannya gaabwe, Samaliya ye Okola, ne Yerusaalemi ye Okoliba. Okola n'ayenda bwe yali owange; n'asuusuuta baganzi be, Abasuuli baliraanwa be, abaayambalanga kaniki, abakulu n'abaamasaza, bonna balenzi abeegombebwa, abasajja ab'embalaasi abeebagadde embalaasi. N'abagabira obwenzi bwe, bonna basajja ab'e Bwasuli abalonde: era buli gwe yasuusuuta, ne yeyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe byonna. So talekangayo bwenzi bwe okuva mu nnaku ez'e Misiri; kubanga mu buto bwe baasula naye, n'akoma okuba embeerera, ne bamufukako obwenzi bwabwe. Kyennava mmuwaayo mu mukono gwa baganzi be, mu mukono gw'Abasuuli be yasuusuuta. Baamwambula ne bamuleka bwereere: ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n'ekitala: n'afuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n'ekibonerezo. Muganda we Okoliba yalaba ebyo byonna, naye ate n'asinga muganda we mu kukyama mu bwenzi n'okusuusuuta baganzi be. Yasuusuuta Abasuuli, abaamasaza n'abakulu, baliraanwa be, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, abeebagala embalaasi, bonna abalenzi abalabika obulungi. Ne ndaba ng'agwagwawazibwa; bombi baakwata ekkubo limu. Ye n'ayongera ku bwenzi bwe; kubanga yalaba abasajja abatonebwa ku kisenge, ebifaananyi eby'Abakaludaaya ebyatonebwa n'eggerenge, nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebiremba ng'ekifaananyi bwe kiri eky'Ababulooni mu Bakaludaaya, ensi mwe baazaalirwa. Awo mangu ago nga kyajje abalabe n'abasuusuuta n'abatumira ababaka mu Bakaludaaya. Abababbulooni ne bajja gy'ali mu kitanda eky'okwagala, ne bamwonoona n'obwenzi bwabwe, ye n'agwagwawazibwa nabo, omwoyo gwe ne gubatamwa. Kale bw'atyo n'abikkula ku bwenzi bwe n'abikkula ku bwereere bwe: kale omwoyo gwange ne gumutamwa, ng'omwoyo gwange bwe gwatamwa muganda we. Era naye n'ayongera ku bwenzi bwe, ng'ajjukira ennaku ez'obuto bwe, mwe yayendera mu nsi ey'e Misiri. Awo n'asuusuuta baganzi baabwe, omubiri gwabwe ng'ennyama y'endogoyi, n'ebibavaamu biri ng'ebiva mu mbalaasi. Bw'otyo n'ojjukira obukaba obw'omu buto bwo, ennywanto zo bwe zaabetentebwa Abamisiri olw'amabeere ag'omu buwala bwo.” Kale, ggwe Okoliba, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndigolokosa ku ggwe baganzi bo omwoyo gwo be gutamiddwa, ne mbaleeta okukulumba enjuyi zonna: Abababbulooni n'Abakaludaaya bonna, Pekodi ne Sowa ne Kowa, n'Abasuuli bonna wamu nabo: abalenzi abeegombebwa, bonna abamasaza n'abakulu, abalangira n'abasajja abayatiikirira, bonna nga beebagadde embalaasi. Era balikutabaala nga bakutte eby'okulwanyisa, amagaali ne bannamuziga, era nga balina ekibiina eky'amawanga; balyesimba okulwana naawe, nga balina obugabo n'engabo n'enkuffiira enjuyi zonna: era ndibatikkira okusala emisango, ne bakusalira omusango ng'emisango gyabwe bwe giri. Era ndikusimbako obuggya bwange, nabo balikubonereza n'ekiruyi; balikuggyako ennyindo yo n'amatu go; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kirigwa n'ekitala: balitwala abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kiryokebwa omuliro. Era balikwambula ebyambalo byo, ne bakuggyako eby'obuyonjo byo ebirungi. Bwe ntyo bwe ndimazaawo gy'oli obukaba bwo n'obwenzi bwo obwava mu nsi y'e Misiri: n'okuyimusa n'otobayimusiza nate amaaso go newakubadde okujjukira Misiri nate. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuwaayo mu mukono gw'abo b'okyawa, mu mukono gw'abo omwoyo gwo be gutamiddwa: nabo balikukola eby'obukyayi, balikuggyako omulimu gwo gwonna, ne bakuleka ng'oli bwereere nga tobikkiddwako: obwereere obw'obwenzi bwo ne bubikkulibwa, obukaba bwo era n'obwenzi bwo. Ebyo birikukolebwa, kubanga wayenda okugoberera ab'amawanga era kubanga ogwagwawazibbwa n'ebifaananyi byabwe. Watambulira mu kkubo lya muganda wo; kyendiva mpa ekikompe kyo mu mukono gwo. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olinywa ku kikompe kya muganda wo, ekiwanvu era ekinene: olisekererwa ddala n'oduulirwa: kirimu bingi. Olijjula obutamiivu n'obuyinike, ekikompe eky'okusamaalirira n'okulekebwawo, ekikompe kya muganda wo Samaliya. Olikinywa n'okutankira, n'omeketa engyo zaakyo, n'oyuza amabeere go: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga onneerabidde, n'onsuula emabega, kale naawe beerako obukaba bwo n'obwenzi bwo.” Era Mukama n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, onoosala omusango gwa Okola ne Okoliba? Kale babuulire emizizo gyabwe. Kubanga baayenda, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe, era baayenda ku bifaananyi byabwe; era ne batabani baabwe be banzaalira baabayisiza mu muliro okuba emmere eri ebifaananyi. Era nate bankoze kino: boonoonye ekifo kyange ekitukuvu ku lunaku olumu, era boonoonye essabbiiti zange. Kubanga bwe baamala okuttira abaana baabwe ebifaananyi byabwe, kale ne bajja ku lunaku olwo mu kifo kyange ekitukuvu okukyonoona; era, laba, bwe batyo bwe bakoze wakati mu nnyumba yange. Era nate mwatumya abantu abava ewala: abaatumirwa omubaka, kale, laba, ne bajja; n'onaabira abo n'oziga amaaso go ne weeyonja n'eby'obuyonjo; n'otuula ku kitanda eky'ekitiibwa, emmeeza ng'etegekeddwa mu maaso gaakyo, kwe wateeka obubaane bwange n'amafuta gange. N'eddoboozi ery'ekibiina ekyegolola kyali naye: abatamiivu ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n'abasajja abakopi; ne bateeka ebikomo ku mikono gy'abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe. Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye mu bwenzi nti Kaakano banaayenda ku ye, naye nabo. Ne bayingira gy'ali, nga bwe bayingira eri omukazi omwenzi: bwe batyo bwe baayingira eri Okola n'eri Okoliba, abakazi abakaba. N'abatuukirivu, abo be balibasalira omusango ng'abakazi abenzi bwe basalirwa omusango era ng'abakazi abayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; kubanga benzi, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe.” Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Ndibalinnyisiza ekibiina ne mbawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi n'okunyagibwa. Kale ekibiina kiribakuba amayinja, ne babafumita n'ebitala byabwe; balitta abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala ne bookya ennyumba zaabwe omuliro. Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bayigirizibwe obutakola ng'obukaba bwammwe bwe buli. Era balibasasula obukaba bwammwe, nammwe mulibaako ebibi eby'ebifaananyi byammwe: kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.” Nate mu mwaka ogw'omwenda mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti “Omwana w'omuntu, wandiika olunaku lw'omwezi olwa leero: kubanga ku lunaku luno kabaka w'e Babbulooni lwa zingiziza Yerusaalemi. Era ogerere ennyumba enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Teeka sseffuliya ku kyoto, giteekeko, ogifukemu amazzi. Giteekemu ebifi by'ennyama: buli kifi ekirungi, ekisambi n'omukono; gijjuze amagumba agasinga obulungi. Genda mu kisibo kyo oggyemu esinga obulungi, oteeke ebisiki wansi w'entamu, ofumbe bulungi byesere, ennyama n'amagumba biggye.’ ” “Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi, kiri nga sseffuliya erimu obutalagge, so n'obutalagge bwayo tebugivaamu. Gyamu ekifi kimu awatali kweroboza, Kubanga omusaayi gwe kyayiwa guli wakati mu kyo; omusaayi kyaguyiwa ku lwazi olwereere, tekyaguyiwa ku ttaka gubikkibweko enfuufu. Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga, kyenvudde nteeka omusaayi gwakyo ku lwazi olwereere, guleme okubikkibwako. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi! era nange ndikola entuumu ennene ey'enku. Tindikira enku nnyingi, okume omuliro, ofumbe bulungi ennyama, fumba okalize amazzi, n'amagumba gasiriire. Oluvannyuma teeka entamu enkalu ku manda ebugume, ekikomo kyayo kyengerere, obujama bwayo busaanukire mu yo, obutalagge bwayo buggweewo. Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere, obutalagge bwakyo obungi tebuvaamu na muliro. Mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga n'afuba nkulongoose, naye tewalongooka. Toliddamu kulongoosebwa okutuusa lwe ndikumalirako ekiruyi kyange. Nze Mukama nkyogedde, ekiseera kirituuka nange ndikikola, siridda mabega era sirisonyiwa so siryejjusa. Ng'amakubo go bwe gali, era ng'ebikolwa byo bwe biri, bwe ntyo bwe ndikusalira omusango, bw'ayogera Mukama Katonda.” Era ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, laba, oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye geegomba. Naye tokungubaganga wadde okukuba ebiwoobe newakubadde okukulukusa amaziga. Ossanga ekikkowe mu kasirise, tokungubagiranga afudde. Weesibanga ekiremba kyo, noonaanika engatto zo mu bigere, so tobikkanga ku mimwa gyo, era tolyanga ku mmere yabakungubazi.” Awo ne njogera n'abantu ku makya, ku olwo akawungeezi, mukazi wange n'afa. Enkeera ne nkola nga Mukama bwe yandagidde. Abantu ne bambuuza nti, “Tootubuulire bino byonna by'okola kye bitutegeeza ffe? ” Awo ne mbagamba nti, “Ekigambo kya Mukama kyanjijidde nga kyogera nti, ‘Gamba ennyumba ya Isiraeri nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndyonoona ekifo kyange ekitukuvu, amalala ag'obuyinza bwammwe, amaaso gammwe kye geegomba, n'ekyo emmeeme yammwe kye yagala, kale batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka mu Yerusaalemi balittirwa mu lutalo. Nammwe mulikola nga nze bwe nkoze: temulibikka ku mimmwa gyammwe era temulirya mmere ya bakungubazi. Mulisigala nga mwesibye ebiremba byammwe ku mitwe gyammwe, era nga mwambadde engatto mu bigere byammwe: temulikungubaga, temulikaaba naye muliyongobera olwo butali butuukirivu bwammwe, na buli muntu alisindira munne ennaku ye. Bwe kityo Ezeekyeri aliba akabonero gye muli, era mulikola nga bw'akoze. Ebyo bwe biribaawo, nga mulitegeera nga nze Mukama Katonda.’ “Naawe, omwana w'omuntu, ku lunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, essanyu n'ekitiibwa kyabwe, amaaso gaabwe kye geegomba, n'ekyo kye bateekako omutima gwabwe, abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, ku lunaku olwo oyo aliba awonyeewo alijja gy'oli okukikutegeeza. Ku lunaku olwo olulimi lwo lulisumulukuka n'osobola okwogera n'oyo aliba awonyeewo. Bw'otyo oliba kabonero gyebali, era balimanya nga nze Mukama.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera abaana ba Amoni, olange ebiribatuukako. Bagambe abaana ba Amoni nti, Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Kubanga mwagamba nti, ‘Otyo!’ ku watukuvu wange bwe wayonooneka; n'ensi ya Isiraeri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse, kale kyendiva mbawaayo eri abantu ab'ebuvanjuba okubatwala, balikuba ensiisira zaabwe mu nsi yammwe, ne batuula mu mmwe, balirya ebibala byammwe ne banywa n'amata gammwe. Ndifuula Labba ekisibo eky'eŋŋamira, n'ensi ya b'Amoni okuba ekifo embuzi we zigalamira, olwo mulimanya nga nze Mukama. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga wakuba mu ngalo, n'osambagala n'ebigere, n'osanyuka n'ettima lyonna ku nsi ya Isiraeri, kyendiva nkugololerako omukono gwange, nnenkuwaayo okuba omunyago eri amawanga; Ndibazikiririza ddala ne mutaddayo kuba ggwanga, wadde okuba n'ensi eyammwe ku bwammwe, mulyoke mumanye nga nze Mukama.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga Mowaabu ne Seyiri boogera nti, Laba, ennyumba ya Yuda efuuse ng'amawanga amalala gonna; kye ndiva ndeka abantu b'ebuvanjuba okulumba ebibuga bya Mowaabu ebiri ku nsalo yakyo: Besuyesimosi, Baalumyoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky'ensi eyo. Ndiwaayo abantu b'Amoni, mu mikono gyabwe, balemenga okujjukirwanga mu mawanga: era ndibonereza ne Mowaabu, kale balimanya nga nze Mukama.” Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Edomu akoze bubi okuwoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw'etyo esingiddwa omusango olw'ekyo. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne ngimalamu abantu n'ensolo. Ndigifuula matongo, abantu baamu balittibwa okuva e Temani okutuuka e Dedani. Ndiwoolera eggwanga ku Edomu n'omukono gw'abantu bange Isiraeri, bagimalireko obusungu n'ekiruyi kyange, balyoke bamanye nga mpoolera eggwanga, bw'ayogera Mukama Katonda.” Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Kubanga Abafirisuuti beesasuza ne bawoolera eggwanga ku balabe baabwe okubasanyawo ne ttima, Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, ndigololera omukono gwange ku Bafirisuuti ne mbazikiriza, era ndimalirawo ddala Abakeresi, n'abaliba bawonyeewo ku b'oku lubalama lw'ennyanja. Ndibabonereza n'obukambwe, mpoolere eggwanga ku bo. Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.” Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n'ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! oyo amenyese eyabanga omulyango ogw'amawanga, nze nzize mu kifo kyakyo, kaakano nja kugaggawala.’ Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndi mulabe wo, ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi, ng'ennyanja bw'esitula amayengo gaayo, gajje gakulwanyise. Balimenya bbugwe wa Ttuulo, bamenye ne minaala gyakyo, ndimuwalakatako ettaka ne mmufuula olwazi olwereere. Anaabanga kifo kya kwanjulirizangako butimba wakati mu nnyanja, kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda: era kinaabanga munyago gw'amawanga. Ne bawala be abali mu ttale balittibwa n'ekitala: kale balimanya nga nze Mukama.” “Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, kabaka asinga bakabaka bonna amaanyi, okuva obukiikakkono, okulumba Ttuulo, ng'alina embalaasi n'amagaali n'abeebagadde embalaasi n'eggye eddene. Alitta n'ekitala abo abali ku lukalu, era alikuzimbako ebigo, n'akutuumako ekifunvu, n'akwolekeza n'engabo. Alimenya ebigo byo n'ebintu bye ebitomera, era n'amenyerawo ddala eminaala gyo n'embazzi ze. Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n'enfuufu yaazo erikubikka. Bbugwe wo alikankana olw'oluyoogaano lw'abo abeebagala embalaasi ne nnamuziga n'amagaali, nga bayingira mu miryango gyo, ng'abantu bwe bayingira mu kibuga ekikubiddwamu ekituli. Alirinnyirira enguudo zo zonna n'ebinuulo by'embalaasi ze: alitta abantu bo n'ekitala, n'empagi ez'amaanyi go zirikka wansi. Era balinyaga obugagga bwo, n'eby'obuguzi bwo balibifuula omuyiggo: era balimenyera ddala bbugwe wo, ne bazikiriza ennyumba zo ez'okwesiima: era baligalamiza amayinja go n'emiti gyo n'enfuufu yo wakati mu mazzi. Era ndikomya eddoboozi ery'ennyimba zo, n'okuvuga kw'ennanga zo tekuliwulirwa nate. Era ndikufuula olwazi olwereere, era onoobanga kifo kya kutegerangako migonjo: tolizimbibwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.” “Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Ttuulo nti Ebizinga tebirikankana olw'okubwatuka olw'okugwa kwo, abaliko ebiwundu bwe balisinda, ng'okutta kuli wakati mu ggwe? Awo abalangira bonna ab'ennyanja baliva ku ntebe zaabwe, ne bambula ebyambalo byabwe, ne beggyako engoye zaabwe ez'eddalizi: balyambala okukankana; balituula ku ttaka nga bakankana, n'okusamaalirira buli kaseera. Era balitandika okukukungubagira ne bakugamba nti Ng'ozikiridde, ggwe eyatuulwangamu abalunnyanja, ekibuga ekyayatiikirira, ekyalina amaanyi ku nnyanja, kyo n'abo abakituulamu, abaaleetanga entiisa ku abo bonna abaagitambulirangamu! Kaakano ebizinga birikankana ku lunaku olw'okugwa kwo: weewaawo, ebizinga ebiri mu nnyanja birikeŋŋentererwa olw'okugenda kwo. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwawo, ng'ebibuga ebitatuulwamu; bwe ndikulinnyisaako ennyanja, amazzi amangi ne gakubikkako; kale ndikukkakkanya wamu n'abo abakka mu bunnya, eri abantu ab'omu biro eby'edda, era ndikutuuza mu njuyi z'ensi eza wansi, mu bifo ebyalekebwawo obw'edda, wamu n'abo abakka mu bunnya, olemenga okutuulwamu; era nditeeka ekitiibwa mu nsi ey'abalamu: ndikufuula entiisa, so tolibaawo nate: newakubadde nga bakunoonya, naye tebaakulabenga nate ennaku zonna, bw'ayogera Mukama Katonda.” Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti, “Naawe, omwana w'omuntu, tandika okukungubagira Ttuulo, ogambe Ttuulo ekiri ku mwalo gw'ennyanja, omusuubuzi w'abantu abokumbalama ennyingi nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Ggwe, Ttuulo oyogedde nti, ‘Nze nnatuukirira mu bulungi.’” “Ensalo zo ziri wakati mu nnyanja, abazimbi bo batuukirizza obulungi bwo. Baakola embaawo zo zonna mu miti emiberozi gye baggya e Seniri, ne baddira emivule okuva e Lebanooni ne bakolamu omulongooti. Mu myera egya Basani mwe bakola enkasi zo, emmanga zo bazikozezza masanga agawaayirwa mu nzo ezaava ku bizinga by'e Kittimu. Ettanga lyo lyali lya bafuta eriko omulimu ogw'eddalizi ogwava e Misiri, libeere gy'oli ebendera: engoye eza kaniki n'ez'effulungu ezaava ku bizinga by'e Erisa ze zaali ettandaluwa yo. Abatuuze b'e Sidoni ne Aluvadi be baali abavuzi bo. Abakugu abaali mu ggwe, be baali abalunnyanja bo. Abakadde ba Gebali n'abakugu baayo baali mu ggwe, nga be baddabiriza ekyombo kyo. Ebyombo byonna eby'oku nnyanja n'abalunnyanja baabyo baabanga mu ggwe okusuubula eby'amaguzi byo.” “Abaperusi, Abaludi n'Abaputi baali mu ggye lyo, nga abasajja bo abalwanyi: baawanikanga mu ggwe engabo n'enkuffiira, ne bakuwa ekitiibwa. Abasajja ab'e Yaluvadi wamu n'eggye lyo be baakuumanga bbugwe wo enjuyi zonna; abasajja b'e Gammanda baabanga mu mirongooti gyo nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo, ne baatuukiriza obulungi bwo.” “Talusiisi yasuubulanga naawe olw'obugagga obw'engeri zonna bwe walina, baawanyisanga ffeeza, ebyuma, amabaati n'amasasi bafune eby'amaguzi byo. Ab'e Yavani, Tubali, ne Meseki, bakusuubulangako, nga bawanyisa abaddu n'ebintu eby'ebikomo okukufunako eby'obuguzi bwo. Ab'e Togaluma baawanyisanga embalaasi ezaabulijjo, n'embalaasi ez'entalo n'ennyumbu olw'ebintu byo. Abasajja ab'e Dedani baasuubulanga naawe, era n'abantu ab'oku lubalama lw'ennyanja baali katale ko, nga bawanyisa amasanga n'emitoogo. Abasuuli baasuubulagananga naawe olw'ebintu ebingi bye walina, baawanyisangamu amayinja aga nnawandagala n'engoye ez'effulungu, n'emidalizo, ne bafuta ennungi ne kolali n'amayinja amatwakaavu. Yuda ne Isiraeri baasuubulagananga naawe, nga bawanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi, eby'akaloosa, omubisi gw'enjuki, amafuta n'envumbo bafune eby'amaguzi byo. Ddamasiko yasuubulanga naawe olw'ebintu ebingi byewalina, n'olw'obugagga bwo obw'engeri zonna, n'omwenge ogw'e Keruboni n'ebyoya by'endiga ebyeru. Vedani ne Yavani baawangayo olw'ebintu byo obugoogwa, ekyuma ekimasamasa, kasiya ne kalamo baabiwanyisangamu eby'amaguzi byo. Dedani yakusuubulangako engoye ez'okwebagala embalasi. Buwalabu n'abalangira bonna ab'e Kedali baakusuubulangako nnyo abaana b'endiga n'endiga ennume n'embuzi. Abasuubuzi ab'e Seeba ne Laama baabanga basuubuzi bo, nga baakusuubulako ebintu byo eby'akaloosa ebisinga byonna obulungi, n'amayinja gonna ag'omuwendo omungi n'ezaabu. Kalani, Kanne ne Edeni n'abasuubuzi b'e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. Abo baasuubulanga engoye ennungi, eza bbululu, eza ddalizi, ebiwempe ebirungi ebiriko emigwa egyalukibwa obulungi. Ebyombo by'e Talusiisi bye byatambuzanga eby'amaguzi byo.” “Wagaggawala n'oba wa kitiibwa kinene wakati mu nnyanja. Abavuzi bo baakutuusiza awali amazzi amangi. Omuyaga ogw'ebuvanjuba gukumenyedde wakati mu nnyanja. Obugagga bwo, by'okozesa n'eby'amaguzi byo, abalunnyanja bo, n'abagoba bo, abakozi bo n'abasuubuzi bo, n'abasajja bo bonna abalwanyi abaali mu ggwe, wamu n'ekibiina kyo kyonna ekiri mu ggwe wakati, baligwa wakati mu nnyanja ku lunaku olw'okugwa kwo. Eddoboozi ly'okukaaba kw'abagoba bo, ebyalo ebiriraanyeewo birikankana. N'abo bonna abakwata enkasi, abalunnyanja n'abagoba bonna ab'oku nnyanja baliva mu byombo byabwe, baliyimirira ku lukalu, era baliyimusa amaloboozi gaabwe, nga bakukaabira, era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne beevulunga mu vvu. Balikumwera emitwe gyabwe, nga bambadde ebibukutu, era balikukaabira nga emmeeme zaabwe zijjudde obuyinike, nga bakungubaga. Awo balikuba ebiwoobe nga bakungubaga, ne bakukungubagira nga boogera nti Ani afaanana Ttuulo, afaanana oyo asirisibwa wakati mu nnyanja? Ebintu byo bwe byavanga ku nnyanja, wajjuzanga amawanga mangi: wagaggawaza bakabaka b'ensi n'eby'obugagga byo ebingi, n'eby'amaguzi byo. Mu biro ennyanja bwe yakumenya mu buziba obw'amazzi, obuguzi bwo n'ekibiina kyo kyonna ne bigwa wakati mu ggwe. Abo bonna abali ku bizinga baasamaaliridde, ne bakabaka baabwe batidde nnyo nnyini, amaaso gaabwe geeraliikiridde. Abasuubuzi ab'omu mawanga bakusooza; ofuuse entiisa, so toobengawo nate ennaku zonna.” Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, gamba omulangira w'e Ttuulo nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Kubanga olina amalala mu mutima gwo, kyova oyogera nti, Ndi katonda, Ntuula ku ntebe ya ba katonda wakati mu nnyanja, Naye oli muntu buntu so si Katonda, newakubadde nga olowooza nga oli mugezi nga Katonda. laba, oli mugezi okusinga Danyeri, tewali kyama kikukwekeddwa. Mu magezi go ne mu kutegeera kwo weefunidde eby'obugagga, n'okuŋŋaanya zaabu ne ffeeza n'obiteeka mu mawanika go. Olw'obukujjukujju bwo mu by'obusuubuzi oyongedde ku bugagga bwo, era n'omutima gwo gwe gulumizizza olw'obugagga bwo.” Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, “Kubanga olowooza nti oli mugezi nga katonda, kyendiva nkuleetako bannamawanga, ab'entiisa ab'omu mawanga, kale balisowola ebitala byabwe okulwanyisa obulungi obw'amagezi go, era balyonoona okumasamasa kwo. Balikusuula mu bunnya, era olifiira eyo okufa okubi wakati mu nnyanja. Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda’ mu maaso gaabo abakutta? naye oli muntu buntu so si Katonda mu mikono gy'abo abakutta. Olifa okufa okw'abatali bakomole, mu mikono gya bannamawanga, kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “ Omwana w'omuntu, kungubagira kabaka w'e Ttuulo, omugambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Gwe wali kabonero akatuukiridde ng'ojjudde amagezi, ng'otuukiridde bulungi. Wali mu Edeni, olusuku lwa Katonda; buli jjinja ery'omuwendo omungi lyabanga lya kukubikkako, sadiyo, topazi, alimasi, berulo, sokamu, yasepi, safiro, ejjinja erya nnawandagala, kabunkulo, ne zaabu. Emirimu egy'ebitaasa byo n'egy'endere zo gyali mu ggwe, gyategekebwa ku lunaku kwe watonderwa Nakuteekako kerubi eyafukibwako amafuta okukukuuma, wali ku lusozi lwa Katonda olutukuvu, ng'otambulira wakati mu mayinja ag'omuliro Tewaliko kya kunenyezebwa kyonna okuva ku lunaku kwe watonderwa okutuusa obutali butuukirivu lwe bwalabika mu ggwe. Mukusubuula kwo okungi, wajjula obukambwe, n'oyonoona. kyenvudde nkusuula nga nkuggya ku lusozi lwa Katonda, ne kerubi akukuuma n'akugoba okuva wakati mu mayinja ag'omuliro. Omutima gwo gwalina amalala olw'obulungi bwo, wakyamya amagezi go olw'okumasamasa kwo. nkusudde wansi, nkutadde mu maaso ga bakabaka, bakutunuulire. Olw'ebibi byo ebingi, mu kusuubula kwo okutali kwa mazima, wayonoona ebifo byo ebitukuvu. Kyennava nziggya omuliro wakati mu ggwe, ne gukusaanyawo, ne nkufuula evvu ku nsi mu maaso g'abo bonna abaakulabanga. Abo bonna abakumanyi mu mawanga, bakwewuunya, otuuse ku nkomerero embi, era tolibeerawo nate ennaku zonna.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Sidoni okirangirireko, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, “Laba, ndi mulabe wo, ayi Sidoni, era ndimanyisa ekitiibwa kyange wakati mu ggwe. kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukibonereza, ne ndaga obutuukirivu bwange mu kyo. Kubanga ndisindika mu kyo kawumpuli n'omusaayi mu nguudo zaakyo; n'abatiddwa baligwa wakati mu kyo, ekitala nga kikirumba enjuyi zonna; kale balimanya nga nze Mukama.” “Kale tewalibaawo nate omweramannyo ogufumita eri ennyumba ya Isiraeri newakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa ab'ettima. Kale balimanya nga nze Mukama Katonda.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndiba nga mmaze okukuŋŋaanya ennyumba ya Isiraeri okubaggya mu mawanga, mwebaasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga, kale balituula mu nsi yaabwe gye nnawa omuddu wange Yakobo. Era balituula omwo mirembe; weewaawo, balizimba ennyumba ne basimba ensuku ez'emizabbibu, ne batuula mirembe nga tebaliiko kye batya; bwe ndiba nga mmaze okubonereza baliraanwa baabwe bonna ababakolanga obubi, kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.” Mu mwaka ogw'ekkumi mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ebbiri ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Falaawo kabaka w'e Misiri, olangirire ebirimutuukako era ne ku Misiri yonna. Yogera gy'ali nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Laba, ndi mulabe wo, Falaawo kabaka w'e Misiri, ogusota ogunene ogugalamira wakati mu migga gyagwo, ogwogedde nti, Kiyira wange, era nnamwekolera. Era nditeeka amalobo mu mba zo, era ndireetera n'ebyennyanja eby'omu migga gyo okukwatira ku magamba go. Era ndikusikayo okuva wakati mu migga gyo, ng'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo bikwatidde ku magamba go. Era ndikuleka ng'osuuliddwa mu ddungu, ggwe n'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo. Oligwa ku ttale, tolikuŋŋaanyizibwa era toliziikibwa. Nkuwaddeyo eri ensolo ez'oku nsi n'eri ennyonyi ez'omu bbanga okuba emmere.” “Kale bonna abali mu Misiri balimanya nga nze Mukama, kubanga obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isiraeri. Bwe bakukwata ku mukono, n'omenyeka n'oyuza ebibegabega byabwe byonna; era bwe baakwesigamako, n'omenyeka, n'okutula emigongo gyonna gyonna. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndikuleetako ekitala, ne nkumalamu abantu n'ensolo. N'ensi y'e Misiri eriba matongo era nsiko; kale balimanya nga nze Mukama: kubanga ayogedde nti Omugga gwange, era nze nnagukola. Kale, laba, nze ndi mulabe wo, era ndi mulabe w'emigga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere n'amatongo, okuva ku kigo eky'e Sevene okutuuka ku nsalo ey'e Buwesiyopya. Tewaliba kigere kya muntu ekiriyitamu so tewaliba kigere kya nsolo ekiriyitamu, so terituulwamu emyaka ana (40). Era ndifuula ensi y'e Misiri amatongo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo mu bibuga ebyalekebwa awo biriba matongo emyaka ana (40). Ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi.” “Naye bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Emyaka ana (40) nga giyiseewo ndikuŋŋaanya Abamisiri okubaggya mu mawanga mwe baasaasaanyizibwa, era Abamisiri ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi y'e Pasulo, mu nsi mwe baazaalirwa; era eyo baliba obwakabaka obwajeezebwa. Bulisinga obwakabaka bwonna okujeezebwa; so tebulyegulumiza nate ku mawanga, era ndibakendeeza, so tebalifuga nate mawanga. Misiri teryesigibwa nate nnyumba ya Isiraeri, naye Isiraeri balyejusa nti baakolanga bubi okudda gyebali okubayamba, kale balimanya nga nze Mukama Katonda.” Awo olwatuuka mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni yaweereza eggye lye okulwanyisa Ttuulo, buli mutwe ne gubaako ekiwalaata, na buli kibegabega ne kibambuka: naye ye n'eggye lye tebaafuna mpeera olw'okulumba Ttuulo. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni ensi y'e Misiri, alitwalira ddala obugagga bwayo n'abanyagira ddala, ebyo bye biriba empeera ey'eggye lye. Mmuwadde ensi y'e Misiri okuba empeera ye gye yatabaalira, kubanga baakola omulimu gwange, bw'ayogera Mukama Katonda. Ku lunaku olwo ndimeza ejjembe ennyumba ya Isiraeri, era ndiyasamya akamwa ko wakati mu bo, kale balimanya nga nze Mukama.” Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, langirira nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Muwowoggane nti Zisanze olunaku! Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli okumpi, olunaku olw'ebire; kiseera ekya kazigizigi eri amawanga. Ekitala kirijja ku Misiri, n'obubalagaze buliba mu Buwesiyopya, abo abattiddwa bwe baligwa mu Misiri; obugagga bwe bulitwalibwa, n'emisingi gyayo girimenyekera ddala.” “Obuwesiyopya, ne Puti, ne Ludi, ne Buwalabu yonna, ne Kubu, n'abantu bonna ab'ensi ez'endagaano, balittibwa ne kitala wamu nabo.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama: Abo abawagira Misiri baligwa, n'amalala ge galimuggwamu; okuva ku kigo eky'e Sevene baligwa omwo n'ekitala, bw'ayogera Mukama. Era baliba nga balekeddwawo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo biriba wakati mu bibuga ebyazisibwa. Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukuma omuliro ku Misiri, n'ababeezi baayo bonna nga babetenteddwa.” “Ku lunaku olwo ababaka balitambula nga bava mu maaso gange nga bagendera mu byombo okutiisa Abaesiyopya abeegolola; kale obubalagaze buliba ku bo, nga ku lunaku lwa Misiri; kubanga, laba, lujja.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Ndikomya obugagga bwa Misiri, n'omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni. Ye n'abantu be awamu naye, ab'entiisa mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi; era balisowola ebitala byabwe okulwanyisa Misiri, ne bajjuza ensi abo abattiddwa. Era ndikaza Kiyira, ne ntunda ensi mu mukono gw'abantu ababi; era ndizikiriza ensi ne byonna ebirimu, n'omukono gwa bannamawanga. Nze Mukama nkyogedde. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Ndizikiriza n'ebifaananyi ebisinzibwa, era ndimalamu ebifaananyi ebikole mu Noofu; tewaliba nate mulangira ava mu nsi y'e Misiri, era nditeeka entiisa mu nsi y'e Misiri. Ndifuula Pasulo okuba amatongo, ne Zowani ndimukumako omuliro, n'ab'e Tebesi ndibabonereza. Era ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri eky'amaanyi, era ndimalirawo ddala abantu bonna ab'e Tebesi. Era ndikuma omuliro ku Misiri; Sini kiriba mu bubalagaze bungi, Ne Tebesi kirimenyeka, ne Noofu kiriba n'abalabe emisana. Abalenzi ba Aveni n'aba Pibesesi baligwa n'ekitala, n'ebibuga bino birigenda mu busibe. Era e Tekafunekeesi kiriba kizikiza emisana, bwendimenya ekikoligo kya Misiri, Amanyi ge yeewaana nago galiggwaawo, alibikibwako ekire, n'abantu bakyo balitwalibwa mu busibe. Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, kale balimanya nga nze Mukama.” Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri; era, laba, tegusibiddwa okusiigako eddagala, n'okugusaako ekiwero okugusiba, gubeere n'amaanyi okukwata ekitala. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wa Falaawo kabaka w'e Misiri, era ndimenya emikono gye, ogw'amaanyi n'ogwo ogwamenyeka; era ndisuula ekitala okuva mu mukono gwe. Era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga, era ndibataataaganyiza mu nsi nnyingi. Era ndinyweza emikono gya kabaka w'e Babbulooni, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe: naye ndimenya emikono gya Falaawo, kale alisindira mu maaso ge ng'omuntu afumitiddwa agenda okufa bw'asinda. Era ndinyweza emikono gya kabaka w'e Babbulooni, n'emikono gya Falaawo girinafuwa. Kale balimanya nga nze Mukama, bwe nditeeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikigololera ku nsi y'e Misiri. Era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi; kale balimanya nga nze Mukama.” Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, gamba Falaawo kabaka w'e Misiri wamu n'abantu be bonna nti, Ofaanana ani mu bukulu bwo?” “Laba, ŋŋenda kukufaanaganya n'omuvule mu Lebanooni, ogw'amatabi amalungi, era agakola ekisiikirize mu kibira, era omuwanvu; n'obusongezo bwagwo nga bukutte mu bire. Amazzi gaaguliisanga, n'amazzi ag'ebuziba ne gaguwanvuya nnyo. Emigga gyagwo ne gikulukuta, okwetooloola olusuku mwe gwasimbibwa, Ne giweereza amatabi gaagyo eri emiti gyonna egy'omu kibira. Ne gulyoka guwanvuwa nnyo negusinga emiti gyonna egy'omu kibira, amatabi gaagwo negeyongera okugejja n'obutabi bwagwo ne buwanvuwa, olw'amazzi amangi gwe galina. Ennyonyi zonna ez'omu bbanga ne zizimba ebisu byazo ku matabi gaagwo, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ne zizaalira abaana baazo wansi w'amatabi gaagwo, n'amawanga gonna amakulu ne gabeera wansi w'ekisiikirize kyagwo. Gwali mulungi mu kitiibwa kyagwo, olw'obuwanvu bwa matabi gaagwo: kubanga emirandira gyagwo gyakka wala awali amazzi amangi. Emivule egy'omu lusuku lwa Katonda tegyayinza kuguvuganya, newakubadde emiberoosi okwenkana matabi gaagwo, n'emyalamooni nga tegiyinza kugerageranyizibwa n'amatabi gaagwo; tewali muti mu lusuku lwa Katonda ogugwenkana mu bulungi. Nagulungiya mu matabi gaagwo amangi, ne miti gyonna egy'omu Edeni egyali mu lusuku lwa Katonda n'okukwatibwa ne gigukwatirwa obuggya.” “Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga gwe gulumizizza ne guwanvuwa okutuuka mu bire, ate ne guba n'amalala olw'obuwanvu bwagwo, kyendiva nguwaayo mu mukono gw'ow'amaanyi afuga amawanga, agubonereze ng'obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye olw'obubi bwagwo. Era bannamawanga ab'entiisa ab'omu mawanga, baguteme, baguleke awo. Amatabi gaagwo gagwe ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n'obutabi bwagwo bugwe mu biwonvu byonna eby'ensi, n'amawanga ag'omu nsi gave wansi we kisiikirize kyagwo, gusigale awo. Ennyonyi zonna ez'omu bbanga zirituula ku gwo nga guli awo wansi, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ziribeera ku matabi mu matabi gaagwo. Kyewaliva walema okubaawo omuti gwonna oguli ku mabbali g'amazzi, oguliwanvuwa oba okwegulumiza okutuuka mu bire. Era tewaliba miti mirala eginywa amazzi, egiriwanvuwa okutuuka awo. Kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, eri enjuyi ez'ensi eza wansi, wakati mu baana b'abantu, wamu n'abo abakka mu bunnya.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe gulikka wansi mu magombe, ndireka obunnya okugukungubagira, ndiziyiza emigga gyagwo, n'amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ndyambaza Lebanooni obuyinike ku lwagwo, n'emiti gyonna egy'omu ttale giriyongobera ku lwagwo. Ndikankanya amawanga olw'eddoboozi ery'okugwa kwagwo bwe nnaguserengesa emagombe wamu n'abo abakka mu bunnya. Olwo emiti gyonna egy'omu Edeni, emironde egya Lebanooni egisinga obulungi, gyonna eginywa amazzi, girisanyusibwa wansi mu nsi. Era nagyo girikka nagwo emagombe awali abo abattibwa n'ekitala, abaguyambanga era abaatuulanga wansi w'ekisiikirize kyagwo wakati mu mawanga. Ofaanana muti ki ekitiibwa n'obukulu mu miti gyonna egy'omu Edeni? Era naye olissibwa wamu n'emiti egy'omu Edeni mu njuyi ez'ensi eza wansi: oligalamira wakati mu batali bakomole, wamu n'abo abattibwa n'ekitala. Oyo ye Falaawo n'abantu be bonna abangi, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12), mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri (12) ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, tandika okukungubagira Falaawo kabaka w'e Misiri omugambe nti,” “Weetwala ng'empologoma mu mawanga, naye oli ng'ogusota oguli mu nnyanja; ng'owaguza mu migga gyo, n'otabangula amazzi n'ebigere byo, ng'osiikula emigga gyabwe. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ndikusuulako omugonjo gwange n'ekibiina eky'amawanga amangi; era balikuvuba n'omugonjo gwange. Era ndikuleka ku lukalu ne nkukasuka ku ttale, ne nkugwisaako ennyonyi zonna ez'omu bbanga, ensolo ez'omu nsi zirikulya ne zibwegera. Era ndisaasaanya ennyama y'omubiri gwo ku nsozi, ne njijuza ebiwonvu amagumba go. Era nditotobaza ensi okutuukira ddala ne ku nsozi omusaayi gwo nga gukulukuta, n'emikutu gy'amazzi girikujjula. Awo bwe ndikumalawo, ndibikka ku ggulu ne nfuula emmunyeenye zaamu okubaako ekizikiza; era ndibikka ekire ku njuba, so n'omwezi tegulireeta kwaka kwagwo. Ebitangaala byonna eby'omu ggulu ebyakaayakana birikufuukira ekizikiza, ne bireeta ekizikiza ku nsi yo, bw'ayogera Mukama Katonda.” “Era ndyeraliikiriza emitima gy'amawanga amangi, bwe ndikutwala ng'oli musibe mu mawanga, mu nsi z'otomanyanga. Abantu bangi balisamalirira ku lulwo, ne bakabaka baabwe balitya nnyo, ne bakankana ku lulwo, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; era balikankana buli kaseera, buli muntu ng'akankanira obulamu bwe ye, ku lunaku olw'okugwa kwo. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti,‘ Ekitala kya kabaka w'e Babbulooni kirituuka ku ggwe.’ Abantu bo bangi ebitala eby'ab'amaanyi biri batta, abantu ab'entiisa mu mawanga.” “Balimalawo amalala ga Misiri, abantu be bonna balizikirizibwa. Ndizikiriza ensolo zaayo zonna okuva awali amazzi amangi; era tewaliba kigere kya muntu kirigatabangula nate, wadde ebinuulo eby'ensolo okugatabangula. Kale ndirongoosa amazzi gaabwe, ne nkulukusa emigga gyabwe ng'amafuta, bw'ayogera Mukama Katonda. Bwe ndirekawo ensi y'e Misiri ne ngizisa, ne ngiggyamu buli kintu ekyagirimu, ne nzita bonna abalimu, kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama.” Kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga; abawala ab'amawanga balikungubaga bwe batyo; balikungubagira Misiri n'abantu baamu bonna bwe batyo, bw'ayogera Mukama Katonda. Era olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano (15) ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, kubira ebiwoobe abantu bonna ab'e Misiri, obasuule wansi, ye n'abawala ab'amawanga agaayatiikirira, mu njuyi ez'ensi eza wansi, wamu n'abo abakka mu bunnya.” “Osinga ani obulungi? serengeta oteekebwe wamu n'abatali bakomole.” “Baligwa wakati mu abo abattiddwa n'ekitala, aweereddwayo eri ekitala: muggyeewo n'abantu be bonna. Ab'amaanyi ab'obuyinza balyogera naye nga bayima wakati mu magombe wamu n'abo abamuyamba: baserengese, bagalamidde, basirise, abatali bakomole abattibwa n'ekitala. Asuli ali eyo n'ekibiina kye kyonna; amalaalo ge gamwetooloodde, bonna battiddwa, bagudde n'ekitala: amalaalo gaabwe gateekebwa mu njuyi ez'obunnya ezikomererayo, n'ekibiina kye kyetoolodde amalaalo ge, bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abaaleetanga entiisa mu nsi ey'abalamu. Eramu ali eyo n'abantu be bonna nga beetoolodde amalaalo ge, bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abasse nga si bakomole mu njuyi ez'ensi eza wansi, abaaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya. Bamusimbidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa wamu n'abantu be bonna, amalaalo ge gamwetooloodde, bonna si bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga entiisa yaabwe yaleetebwanga mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya, ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa. Meseki, Tubali, n'abantu be abangi abali eyo, amalaalo gaabwe gabeetooloodde, bonna abatali bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga baaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu. So tebaligalamira wamu n'ab'amaanyi abagudde ku batali bakomole, abasse mu magombe nga balina eby'okulwanyisa byabwe n'ebitala byabwe nga biteekeddwa ku mitwe gyabwe, n'obutali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabanga ntiisa eri ab'amaanyi mu nsi ey'abalamu. Naye olimenyekera wakati mu batali bakomole, era oligalamira wamu n'abo abattiddwa n'ekitala. Edomu naye ali eyo, bakabaka be n'abakungu be, newakubadde nga ba maanyi, abateekeddwa wamu n'abo abattiddwa n'ekitala. Bagalamidde n'abatali bakomole n'abo abakka mu bunnya. Eriyo abalangira bonna ab'obukiikakkono, n'Abasidoni bonna, abasse n'abo abattiddwa; newakubadde nga baaleeta entiisa olw'amaanyi gaabwe, bakwatiddwa ensonyi; era bagalamidde nga si bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya. Falaawo bwalibalaba, alyekubagiza olw'abantu n'asanyusibwa olw'olufulube lwe lwonna: Falaawo n'eggye lye lyonna abattiddwa n'ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda. Kubanga ntadde entiisa ye mu nsi ey'abalamu, era aliteekebwa wakati mu batali bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ye Falaawo n'abantu be bonna, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, yogera eri abantu bo obagambe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'omu nsi ne baddira omusajja wakati mu bo ne bamuteekawo okuba omukuumi waabwe, n'alaba ekitala nga kijja ku nsi, n'afuuwa ekkondeere n'alabula abantu; kale buli awulira okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka, ekitala bwe kijja ne kimuggyawo, kale omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye. Kubanga awulidde okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka; omusaayi gwe kye guliva gubeera ku mutwe gwe ye, naye singa yalabuka yandiwonyezza emmeeme ye. Naye omukuumi bw'alabanga ekitala nga kijja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, ekitala ne kijja, ne kiggya mu bo omuntu yenna; kale ng'aggiddwawo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi. Naawe bw'otyo, omwana w'omuntu, nkutaddewo okuba omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri; kale, owuliranga ekigambo ekiva gyendi, n'obategeeza okulabula okuva gye ndi. Bwe ŋŋambanga omubi nti Ayi omubi, tolirema kufa, n'otoyogera kulabula omubi okuva mu kkubo lye; omuntu oyo omubi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe Era naye bw'olabulanga omubi okuleka ekkubo lye, n'atakyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.” “Naawe, omwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Isiraeri nti Mwogera bwe muti nti, ‘Okusobya kwaffe n'okwonoona kwaffe kuli ku ffe, era tuyongoberera mu kwo; kale tuyinza tutya okuba abalamu?’ Bagambe nti, Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, sisanyukira okufa kw'omubi, wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ayi ennyumba ya Isiraeri? Naawe, omwana w'omuntu, gamba abantu bo nti, Obutuukirivu obw'omutuukirivu tebulimuwonyeza ku lunaku olw'okusobya kwe; n'obubi obw'omubi tebulimuzikirizisa ku lunaku lw'akyuka okuleka obubi bwe. Oyo alina obutuukirivu taliyinza kuba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona. Bwe ŋŋamba omutuukirivu nga aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu ebirijjukirwa; naye mu butali butuukirivu bwe bw'akoze omwo mw'alifiira. Nate bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; naye n'akyuka okuleka okwonoona kwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga; omubi oyo n'okuzzayo n'azzaayo omusingo, n'azzayo ekyo kye yabba, n'atambulira mu mateeka ag'obulamu, nga taliiko butali butuukirivu bw'akola, aliba mulamu, talifa. Tewaliba ku bibi bye bye yakola ebirijjukirwa ku ye, kubanga akoze ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu. Era naye abantu bo boogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Naye ate ekkubo lyabwe lye litenkanankana. Omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola obutali butuukirivu, alifiira omwo. Era omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu olw'ebyo. Era naye mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Ayi ennyumba ya Isiraeri, ndibasalira omusango buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.” Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'okusibibwa kwaffe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano omu eyali awonye mu Yerusaalemi n'ajja gye ndi n'aŋŋamba nti, “Ekibuga kikubiddwa.” Awo omukono gwa Mukama gwali nga gumbaddeko akawungeezi, oyo awonyeewo nga tannaba kuntukako enkeera, Mukama yali asumuludde akamwa kange nga ntandise okwogera nga sikyali kasiru. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, abo abali mu bifo ebyo ebyazika eby'omu nsi ya Isiraeri boogera nti, ‘Ibulayimu yali omu, naye n'asikira ensi, naye ffe tuli bangi, ensi etuweereddwa okuba obusika.’ Kale bagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusa amaaso gammwe eri ebifaananyi byammwe ne muyiwa omusaayi, era mulirya ensi? Mwesiga kitala kyammwe, mukola eby'emizizo ne mwonoona buli muntu mukazi wa munne, era mulirya ensi?’ Bw'oti bw'oba obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bifo ebyazika baligwa n'ekitala, n'oyo ali mu ttale ebweru ndimuwaayo eri ensolo okuliibwa, n'abo abali mu bigo ne mu mpuku balifa kawumpuli. Era ndifuula ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo, n'amalala ag'obuyinza bwayo galikoma; n'ensozi za Isiraeri zirirekebwawo, omuntu yenna aleme okuyitamu. Kale olwo balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga nfudde ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo olw'emizizo gyabwe gyonna gye bakoze. Naawe, omwana w'omuntu, abantu bo bakwogerako mu bisaakaate ne mu miryango egy'ennyumba, nga bagambagana nti, Mujje, tuwulire ekigambo ekivudde eri Mukama. Ne bajja gy'oli ng'abantu bwe bajja, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange ne bawulira ebigambo byange naye ne batabikola: kubanga boolesa okwagala kungi n'akamwa kaabwe, naye omutima gwabwe gugoberera amagoba gaabwe. Era, laba, oli gyebali ng'oluyimba olulungi ennyo olw'omuntu alina eddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga: kubanga bawulira ebigambo byo, naye ne batabikola. Awo ebyo bwe birituukirira, era nga bijja kutuukirira, kale ne balyoka bamanya nga nnabbi abadde mu bo.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, gamba abasumba ba Isiraeri, obagambe abasumba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye ne mutaliisa ndiga. Eteyinza temugizizzamu maanyi, so n'endwadde temugijjanjabye, emenyese temugisibye, ewabye temuginoonyeza, ebuze temugikomezzaawo, naye muzifuze n'amaanyi n'amawaggali. Ne ziryoka zisaasaana olw'obutabaako musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo ez'omu nsiko. Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi ne ku buli kasozi akawanvu, weewaawo, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza. Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama. Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo ez'omu nsiko olw'obutabaako musumba, era n'abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange; kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama; bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba eky'okulya eri bo. Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza. Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza. Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw'ensalosalo z'amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby'ensi. Ndiziriisa omuddo omulungi, era ku ntikko z'ensozi za Isiraeri kwe zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu kisibo ekirungi, ne ziriira omuddo omugimu ku nsozi za Isiraeri. Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza, bw'ayogera Mukama Katonda. Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba, ne nsiba ezaamenyeka, ne nzizzaamu amaanyi eziteyinza, naye ezassava n'ez'amaanyi, ndizirabirira ne nziriisa mu mazima. Nammwe, ekisibo kyange, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nsala omusango ogw'ensolo n'ensolo, ogw'endiga ennume era n'embuzi ennume. Mukiyita kigambo kitono nga mu maze okulya omuddo omulungi, naye ate ne mulinnyirira ogusigaddewo? Era nga mu maze okunywa amazzi amateefu, naye ate ne musiikuula n'ebigere byammwe agasigaddewo? N'endiga zange zirya ebyo bye mulinnyiridde n'ebigere byammwe, ne zinywa ago ge musiikudde n'ebigere byammwe.” “Mukama Katonda kyava abagamba bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndisala omusango gw'endiga ensava n'ogw'endiga enkovvu. Kubanga musindisa embiriizi n'ebibegabega, ne mutomeza ezirwadde zonna amayembe gammwe okutuusa lwe muzisaasaanyiza ddala; kyendiva mponya ekisibo kyange, so teziriba nate muyiggo; nange ndisala omusango wakati w'endiga n'endiga. Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi, ye alizirunda, era ye aliba omusumba waazo. Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo, nze Mukama nkyogedde. Era ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, balibeera mu ddungu era ne beebaka mu kibira nga tebalina kye batya. Era ndibawa omukisa wamu n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa enkuba mu ntuuko yaayo, walibaawo enkuba ey'omukisa. N'omuti ogw'omu ttale gulibala ebibala byagwo, n'ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby'ekikoligo kyabwe, era nga mbawonnyezza mu mukono gw'abo abaabafuula abaddu. So tebaliba muyiggo nate eri ab'amawanga, so n'ensolo ez'omu nsi teziribalya; naye balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa. Era ndibayimusiza ensuku engimu, so tebalimalibwawo nate n'enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi za b'amawanga nate. Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe ndi wamu nabo, era nga bo, ennyumba ya Isiraeri, be bantu bange, bw'ayogera Mukama Katonda. Nammwe, endiga zange, endiga ez'omu ddundiro lyange, muli bantu bange, nange ndi Katonda wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, kyuka otunuulire olusozi Seyiri, olugambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ayi olusozi Seyiri, era ndikugololerako omukono gwange, era ndikufuula okuba amatongo n'ekyewuunyo. Ndizisa ebibuga byo, naawe oliba matongo; kale olimanya nga nze Mukama. Kubanga wabanga n'obulabe obutakoma, n'owaayo abaana ba Isiraeri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby'okubonerezebwa kwabwe okw'enkomerero. Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n'omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, omusaayi kyeguliva gukucocca. Bwe ntyo ndifuula olusozi Seyiri okuba ekyewuunyo n'amatongo; era ndimalirawo okwo oyo ayitamu n'oyo akomawo. Era ndijjuza ensozi zaayo abaayo abattibwa: abattibwa n'ekitala baligwa ku nsozi zo ne mu biwonvu byo ne mu nsalosalo zo zonna ez'amazzi. Ndikufuula amatongo ag'olubeerera, era ebibuga byo tebiribeeramu bantu, kale mulimanya nga nze Mukama. Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n'ensi zino zombi zizo, era olizetwalira, newakubadde nga Mukama yali eyo; kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, ndikola ng'obusungu bwo bwe buli era ng'obuggya bwo bwe buli bwe walaga okuva mu kukyawa kwe wabakyawa; era ndyemanyisa mu bo, bwe ndikusalira omusango. Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuvvoola kwo kwonna kwe wavvoola eri ensozi za Isiraeri, ng'oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya. Era mwanneegulumirizaako n'akamwa kammwe, era mwongera okunjogerako ebigambo, naye mpulira. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna erisanyuka, bwe ndikufuula ggwe amatongo. Nga bwe wasanyukira obusika obw'ennyumba ya Isiraeri bwe bwafuuka amatongo, nange bwe ntyo bwe ndikukola. Gwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna, mulifuuka matongo, kale balimanya nga nze Mukama.” “Naawe, omwana w'omuntu, yogera eri ensozi za Isiraeri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga omulabe aboogeddeko nti ‘Otyo!’ Ebifo ebigulumivu eby'edda kaakano byaffe, kale yogera nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga, baabaccocca ne babayigganya enjuyi zonna, amawanga amalala gabalye, era mwafuuka eky'okwogerwako era ne baboogerako eby'obulimba; kale, mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda; bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, ebifulukwa, n'ebibuga ebyafuuka amatongo, ebyafuuka omuyiggo n'eky'okusekererwa eri amawanga ageetoolodde; Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Mazima njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n'eri Edomu yonna abeesunga okulya ensi yange, nga bajjudde essanyu n'okujooga mu mitima gyabwe, ne bagifuula okuba omuyiggo gwabwe. Kale yogera eri ensi ya Isiraeri ogambe ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, njogera nga nzijudde obuggya n'obusungu, mwasekererwa nnyo amawanga. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nnyimusizza omukono gwange nga njogera nti Mazima amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.” “Naye mmwe, ayi ensozi za Isiraeri, mulireeta amatabi gammwe, ne mubalira abantu bange Isiraeri ebibala kubanga banaatera okudda ewaabwe. Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndibakwatirwa ekisa, nammwe mulirimibwa, ne musigibwa, era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isiraeri nga bweyenkana, ebibuga birituulwamu n'ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa. Ndyaza abantu n'ensolo era abantu balyeyongera okuzaala era n'ensolo, era ndibazzayo ewammwe, era ndibakola bulungi okusinga bwe nnakola mu kusooka, kale mulimanya nga nze Mukama. Nditambuliza ku mmwe, abantu bange Isiraeri, balibafuga era muliba mugabo gwabwe, era temuliddamu kutta baana baabwe. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga babagamba nti, Ggwe ensi, oli muli wa bantu, wasaanyaawo abantu b'eggwanga lyo; n'olw'ekyo toliddayo kusaanyaawo bantu, era tolifiiriza nate eggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda. Toliddamu nate kuwulira kusekererwa kw'amawanga, wadde okuvumibwa abantu, so tolyesittaza nate ggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda.” Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri bwe baatuulanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw'empisa zaabwe n'olw'ebikolwa byabwe, era empisa zaabwe zaali ng'obutali bulongoofu bw'omukazi mu kweyawula kwe. Kyennava mbafukako ekiruyi kyange, olw'omusaayi bo gwe bayiwa mu nsi, era n'olw'okugyonoona nga basinza ebifaananyi byabwe. Ne mbasaasaanyiza mu mawanga ne bataataaganira mu nsi nnyingi, ne mbasalira omusango ng'empisa zaabwe n'ebikolwa byabwe bwe byali. Awo bwe baatuuka mu mawanga gye baagenda, ne bavumisa erinnya lyange ettukuvu; kubanga abantu baaboogerangako nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baava mu nsi ye.’ Naye ne nsaasira erinnya lyange ettukuvu ennyumba ya Isiraeri lye baali bavumisizza mu mawanga gye baagenda. Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Sikola kino ku lwammwe, ayi ennyumba ya Isiraeri, naye ku lw'erinnya lyange ettukuvu lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda. Era nditukuza erinnya lyange ekkulu eryavumisibwa mu mawanga, mmwe lye muvumisizza wakati mu go; kale amawanga galimanya nga nze Mukama, bw'ayogera Mukama Katonda, bwe nditukuzibwa mu mmwe mu maaso gaabwe. Kubanga ndibaggya mu mawanga, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna, ne mbayingiza mu nsi yammwe mmwe. Era ndibamansirako amazzi amalungi, era muliba balongoofu, ndibalongoosa ne mbaggya mu bibi byammwe byonna ne mu bifaananyi byammwe byonna. Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama. Era nditeeka omwoyo gwange munda mu mmwe, ne mbatambuliza mu mateeka gange, era mulikwata ebiragiro byange ne mubikola. Awo munaabeeranga mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; nammwe munaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe. Era ndibawonya mu butali bulongoofu bwammwe bwonna; era ndiyita eŋŋaano, ne ngyaza, so siribaleetako njala. Era ndyaza ebibala eby'emiti, n'ekyengera eky'omu nnimiro, mulemenga okusekererwa nate mu mawanga olw'enjala. Kale olwo ne mulyoka mujjukira amakubo gammwe amabi n'ebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa mmwe olw'obutali butuukirivu bwammwe n'olw'emizizo gyammwe. Mukimanye sikola kino ku lwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda, naye mukwatibwe ensonyi olw'amakubo gammwe, muswale, ayi ennyumba ya Isiraeri. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe ndibanaalizaako obutali butuukirivu bwammwe bwonna, ndituuza abantu mu bibuga, n'ebifulukwa biriddabirizibwa. N'ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nate ensiko mu maaso g'abo bonna abaagiyitaangamu. Kale balyogera nti, Ensi eno eyali ezise efuuse ng'olusuku Edeni; n'ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano bikoleddwako bbugwe era birimu abantu ababibeeramu. Kale amawanga agasigadde agabeetoolodde galimanya nga nze Mukama nziddabiriza ebifo ebyayonoonebwa, n'okulongoosa ebyali bizise, nze Mukama nkyogedde, era ndikikola.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era njagala ennyumba ya Isiraeri okunsaba ekyo okukibakolera; ndibongerako abantu babeere ng'ekisibo. Balyala ng'ekisibo kya ssaddaaka, ng'ekisibo kyo mu Yerusaalemi mu mbaga zaakyo ezaalagirwa ebibuga ebyali amatongo bwe birijjula bwe bityo enkuyanja y'abantu. Kale balimanya nga nze Mukama.” Omukono gwa Mukama gwali ku nze, n'antwala n'anfulumiza mu mwoyo gwa Mukama, n'anzisa wakati mu kiwonvu; kale nga kijjudde amagumba; n'akinneetoolooza, amagumba nga mangi nnyo mu kiwonvu, ate nga makulu nnyo. N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?” Ne nziramu nti, “Ayi Mukama Katonda, ggwe omanyi.” N'aŋŋamba nate nti, “Yogera eri amagumba gano, ogagambe nti, Ayi mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama. Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba amagumba gano nti, ndiyingiza omukka mu mmwe, ne mufuuka balamu. Ndibateekako ebinywa, era ndireeta ennyama ku mmwe, ne mbateekako olususu, ne mbateekamu omukka, kale mulimanya nga nze Mukama.” Awo ne njogera nga bwe nnalagirwa; awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ng'ebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta buli ggumba n'eggumba linnaalyo. Awo ne ntunula, n'endaba nga gazeeko ebinywa, omubiri n'olususu, naye nga temuli mukka mu go. Awo n'aŋŋamba nti, “yogera eri omukka, yogera omwana w'omuntu, ogambe omukka nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Jjangu okuva eri empewo ennya, ayi omukka, oyingire mu bano abattibwa, babeere abalamu.” Awo nenjogera nga bwe yandagira, omukka ne gubayingira, ne babeera balamu, ne bayimirira ku bigere byabwe, ne baba eggye ddene nnyo. Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isiraeri: kubanga boogera nti, ‘Amagumba gaffe gakala era n'essuubi lyaffe lyaggwaawo.’ Kale yogera obagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ayi abantu bange, ne mbazzaayo mu nsi ya Isiraeri. Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga njasamizza amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ayi abantu bange. Era nditeeka omwoyo gwange mu mmwe, era muliba balamu, era ndibateeka mu nsi yammwe mmwe, kale mulimanya nga nze Mukama nkyogedde, era n'okutuukiriza ne nkituukiriza, bw'ayogera Mukama.” Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti, “Naawe, omwana w'omuntu, ddira omuggo gumu, oguwandiikeko nti Gwa Yuda, n'abaana ba Isiraeri abakolagana nabo. Oddire omuggo omulala oguwandiikeko nti, ‘Gwa Yusufu, era ye Efulayimu, ne nnyumba yonna eya Isiraeri abakolagana nabo.’ Gikwate gyombi, gibeere omuggo ogumu, mu mukono gwo. Awo abantu bo bwe balyogera naawe nga bagamba nti, ‘Tootunnyonnyole makulu g'ebyo byonna bwe gali?’ Obagambanga nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndiddira omuggo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n'ebika bya Isiraeri bwe bakolagana nabo, ne mbateeka wamu n'omuggo gwa Yuda, ne mbafuula omuggo gumu mu mukono gwange. N'emiggo gy'owandiiseeko giriba mu mukono gwo mu maaso gaabwe. Bagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti ndiggya abaana ba Isiraeri wakati mu mawanga gye baagenda, ne mbakuŋŋaanyiza okuva wonna, ne mbaleeta mu nsi yaabwe bo. Ndibafuula eggwanga erimu mu nsi ku nsozi za Isiraeri, balifugibwa kabaka omu, tebaliddamu kwawulibwamu nate okuba obwakabaka obubiri, era tebaliddayo kweyonoona n'ebifaananyi byabwe, n'ebintu byabwe eby'emizizo, wadde okusobya kwonna okulala. Naye ndibalokola okuva mu bifo byonna gye baakoleranga ebibi, ne mbalongoosa: kale bwe batyo banaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda waabwe. N'omuddu wange Dawudi ye aliba kabaka waabwe; era bonna baliba n'omusumba omu, era n'okutambula balitambulira mu biragiro byange, ne bakwata amateeka gange ne bagakola. Era balibeera mu nsi gye nnawa Yakobo omuddu wange, bajjajjammwe mwe baabeeranga, kale balibeera omwo, bo n'abaana baabwe n'abaana b'abaana baabwe, emirembe gyonna. Dawudi omuddu wange ye anaabanga omulangira waabwe emirembe gyonna. Era nate ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, eneebanga ndagaano ey'olubeerera, era ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka awatukuvu wange wakati mu bo emirembe gyonna. Era n'eweema yange eneebanga nabo, nange n'abanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange. Kale amawanga galimanya nga nze Mukama atukuza Isiraeri, awatukuvu wange bwe wanaabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.” Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Omwana w'omuntu, amaaso go goolekeze Googi, ow'omu nsi ya Magoogi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali, omugambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndi mulabe wo, gwe Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali. Ndikuzzaayo, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndikufulumya n'eggye lyo lyonna, embalaasi n'abasajja abeebagadde embalaasi, bonna nga bambadde eby'okulwanyisa ebyatuukirira, ekibiina ekinene, nga balina engabo ennene n'entono, bonna nga bakutte n'ebitala. Obuperusi, Kuusi, ne Puti nga bali nabo; bonna nga balina engabo n'enkuffiira. Gomeri n'eggye lye lyonna; ennyumba ya Togaluma okuva ewala mu bukiikakkono n'eggye lye lyonna: amawanga mangi nga gali naawe.” “Beera nga weeteeseteese, weewaawo, weetegeke, ggwe n'ebibiina byo byonna abakuŋŋaanidde gy'oli, obeere omugabe waabwe. Oluvannyuma olw'ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy'oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, omukuŋŋaanyizibwa amawanga amangi, ku nsozi za Isiraeri, ezaali ensiko etevaawo: naye eggibwa mu mawanga, era balituula nga tebaliiko gwe batya yenna. Kale olyambuka n'obalumba nga kibuyaga, oliba ng'ekire okubikka ku nsi, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga mangi nga gali naawe. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olulituuka ku lunaku olwo ebirowoozo ebibi birikujjira, naawe olitegeka okukola obubi. Kale olyogera nti, Ndyambuka mu nsi ey'ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, bonna nga babeerera awo awatali bbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi: okunyaga ebintu, n'okutwala omunyago, nga nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu abakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunye ebisibo n'ebintu, ababeera wakati w'ensi zonna. Seeba ne Dedani n'abasuubuzi ab'e Talusiisi, n'ab'ebyalo bye bonna balibabuuza nti, ‘Muzze okunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwalire ddala effeeza n'ezaabu, ensolo n'ebintu byaffe, mutwale omunyago mungi?’ ” “N'olwekyo omwana w'omuntu, yogera ogambe Googi nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku olwo abantu bange Isiraeri lwe balituula nga tebaliiko kye batya, tolikimanya? Kale olijja ng'ova mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n'amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene. Olitabaala abantu bange Isiraeri, ng'ekire ekibikka ku nsi. Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ggwe Googi ndikutabaaza ensi yange, amawanga gakumanye, era nditukuzibwa mu maaso gaabwe.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe wuuyo gwe nnayogererako edda mu baddu bange bannabbi ba Isiraeri, abaayogerera emyaka emingi nga ndikusindika okubatabaala bo? Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw'alitabaala ensi ya Isiraeri, ndisumulula ekiruyi kyange, bw'ayogera Mukama Katonda. Kubanga njogeza obuggya bwange n'omuliro ogw'obusungu bwange nti Mazima ku lunaku olwo mu nsi ya Isiraeri mulibaamu okukankana okunene; ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsiko, n'ebintu byonna ebyewalula ku ttaka, n'abantu bonna abali ku maaso g'ensi n'okukankana balikankanira okujja kwange, n'ensozi zirisuulibwa, n'amabanga galigwa, na buli bbugwe aligwa wansi. Awo ensozi zange zonna ndiziyitira ekitala okumulwanyisa, bw'ayogera Mukama Katonda: buli muntu alirwana ne muganda we. Era ndibabonereza ne kawumpuli n'okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa enkuba erimu omuzira era n'omuliro ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye. Kale ndyegulumiza ne ndaga ekitiibwa kyange mu maaso g'amawanga amangi; kale balimanya nga nze Mukama.” “Naawe, omwana w'omuntu, yogera eri Googi nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, gwe Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali. Ndikukyusa ne nkuggya okuva e bukiikakkono obw'ewala ennyo, ne nkutuusa ku nsozi za Isiraeri. Ndiggya omutego gwo mu mukono gwo ogwa kkono, ne nkusuuza n'obusaale bwo obuli mu mukono gwo ogwa ddyo. Oligwa ku nsozi za Isiraeri, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga agali naawe: ndikuwaayo eri ennyonyi ez'amaddu ez'engeri zonna n'eri ensolo ez'omu nsiko okuliibwa. Oligwa ku ttale mu bbanga, kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda. Era ndiweereza omuliro ku Magogi, ne ku abo abatuula ku bizinga nga tebaliiko kye batya: kale balimanya nga nze Mukama.” “Era ndimanyisa erinnya lyange ettukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so siriganya erinnya lyange ettukuvu kuvumibwa nate, kale amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isiraeri. Kijja, era kirikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda; luno lwe lunaku lwe nnayogerako. N'abo abatuula mu bibuga bya Isiraeri balifuluma, ne babissaako omuliro eby'okulwanyisa, engabo ennene ne ntono, emitego n'obusaale, emiggo n'amafumu, balibikozesa ng'enku okumala emyaka musanvu. Tekiribeetaagisa kutyaba nku mu ttale so tebalitema nku zonna mu kibira; kubanga eby'okulwanyisa bye balikozesa ng'enku, balinyaga abo abaabanyaganga, era balibba abo abaabalabanga, bw'ayogera Mukama Katonda.” “Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky'abatambuze ku luuyi olw'ennyanja olw'ebuvanjuba. Kiriziba ekkubo ly'abatambuze, kubanga baliziika eyo Googi n'enkuyanja y'abantu be bonna. Kale balikiyita nti, ‘Kiwonvu Kamonugoogi.’ Era ennyumba ya Isiraeri balimala emyezi musanvu nga babaziika, balongoose ensi. Weewaawo, abantu bonna ab'omu nsi balibaziika; era kiriba kya kaati gyebali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda. Era balisaawo abasajja okukola omulimu gw'okulongoosa ensi, nga bayita mu nsi okunoonya n'okuziika abatambuze abalisigala ku ngulu ku nsi. Oluvannyuma lw'emyezi musanvu balitandika okunoonya abafu. N'abo abanaayitanga mu nsi, bwe banaalabanga eggumba ly'omuntu yenna, anaasimbangako akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu kiwonvu Kamonugoogi. Era walibaawo ekibuga ekiriyitibwa Kamona. Bwe batyo bwe balirongoosa ensi.” “Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Yogera n'ennyonyi ez'engeri zonna na buli nsolo ey'omu nsiko nti Mukuŋŋaane, mujje mukuŋŋaane okuva enjuyi zonna eri ssaddaaka yange gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isiraeri, mulye ennyama, munywe n'omusaayi. Mulirya ennyama ey'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abalangira ab'ensi, ogw'endiga ennume n'ogw'abaana b'endiga n'ogw'embuzi, n'ogw'ente ennume, zonna eza ssava ez'e Basani. Era mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mugutamiira, ku ssaddaaka yange gye mbateekeddeteekedde. Era mulikkutira mu ddiiro lyange, embalaasi n'amagaali, abasajja ab'amaanyi n'abasajja bonna abalwanyi, bw'ayogera Mukama Katonda.” “Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, n'omukono gwange gwe mbataddeko. Kale ennyumba ya Isiraeri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. N'amawanga galimanya ng'ennyumba ya Isiraeri baagenda mu busibe olw'obutali butuukirivu bwabwe; kubanga bansobya ne mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, bonna ne battibwa n'ekitala. Ng'obutali bulongoofu bwabwe bwe bwali era ng'okusobya kwabwe bwe kwali, bwe ntyo bwe nnabakola, ne mbakweka amaaso gange.” “Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kaakano nnaakomyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira ennyumba yonna eya Isiraeri; era ndikwatirwa erinnya lyange ettukuvu obuggya. Balyerabira okuswazibwa kwabwe n'okusobya kwabwe kwonna kwe bansobya, bwe balituula mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya, so nga tewali abatiisa; bwe ndiba nga mbakomezzaawo okubaggya mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez'abalabe baabwe, era nga ntukuziddwa mu bo mu maaso g'amawanga amangi. Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe, kubanga n'abasindika mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza mu nsi yaabwe bo; so ssirireka nate n'omu ku bo okubeera eyo; so ssiribakweka nate maaso gange: kubanga nfuse omwoyo gwange ku nnyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.” Mu mwaka ogw'abiri mu etaano (25) ogw'obuwaŋŋanguse bwaffe, omwaka nga kye gujje gutandike, ku lunaku olw'ekkumi (10) olw'omwezi mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ekibuga nga kimaze okumenyebwa, ku lunaku olwo omukono gwa Mukama ne guba ku nze, n'antwalayo. Mukwolesebwa, Katonda n'antwala mu nsi ya Isiraeri, n'anzisa ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali ekifaananyi ky'ekibuga mu bukiikaddyo N'antwalayo, kale, laba, nga waliwo omusajja, enfaanana ye ng'enfaanana ey'ekikomo, ng'alina omugwa ogw'obugoogwa mu mukono gwe n'olumuli olugera; n'ayimirira mu mulyango. Omusajja oyo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, tunula n'amaaso go, owulire n'amatu go, oteeke omutima gwo ku byonna bye nnaakulaga; kubanga kyovudde oleetebwa wano ndyoke mbikulage: byonna by'onoolaba obibuuliranga ennyumba ya Isiraeri.” Awo, laba, ekisenge ebweru w'ennyumba okwetooloola, ne mu mukono gw'omusajja nga mulimu olumuli olugera, obuwanvu bwalwo emikono mukaaga, buli mukono ko n'oluta: awo n'agera obugazi bw'ennyumba, olumuli lumu; n'obugulumivu olumuli lumu. Awo n'ajja eri omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya ku madaala gaagwo; n'agera awayingirirwa ow'omulyango, obugazi bwawo olumuli lumu: n'awayingirirwa awalala, obugazi bwawo olumuli lumu. Na buli nju obuwanvu bwayo olumuli lumu n'obugazi bwayo olumuli lumu; ne wakati w'amayu emikono etaano; n'awayingirirwa ow'omulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, waaliwo olumuli lumu. Era n'agera n'ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, olumuli lumu. Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'emifuubeeto gyamu, emikono ebiri; n'ekisasi eky'oku mulyango kyayolekera ennyumba. N'amayu ag'oku mulyango ebuvanjuba gaali asatu (3) eruuyi n'asatu (3) eruuyi; ago gonsatule ga kigera kimu n'emifuubeeto gyalina ekigera kimu eruuyi n'eruuyi. Era n'agera awayingirirwa mu mulyango obugazi bwawo, emikono kkumi (10); n'obuwanvu bw'omulyango emikono kkumi n'esatu (13); n'ebbanga eryali mu maaso g'amayu, omukono gumu eruuyi, n'ebbanga omukono gumu eruuyi; n'amayu emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi. N'agera omulyango okuva ku nju waggulu okutuuka ku nju ginnaayo waggulu, obugazi emikono abiri mu etaano (25); oluggi nga lwolekera oluggi. Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga (60); n'oluggya lwatuuka ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola. N'okuva ku bwenyi bw'omulyango awayingirirwa okutuuka ku bwenyi obw'ekisasi eky'omunda eky'oku mulyango gyali emikono ataano (50). Era amayu gaaliko obudirisa, n'emifuubeeto gyago egyali munda w'omulyango enjuyi zonna, era n'ebizizi bwe bityo byaliko ebituli: era munda mwalimu ebituli okwetooloola: ne ku buli mufuubeeto kwaliko ebifaananyi eby'enkindu. Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, era, laba, nga waaliwo ebisenge asatu (30), n'amayinja amaaliire, okwetooloola oluggya. N'amayinja amaaliire gaali ku mabbali g'emiryango, okwenkanankana n'obuwanvu obw'emiryango, ge mayinja amaaliire aga wansi. Awo n'agera obugazi okuva ku bwenyi obw'omulyango ogwa wansi okutuuka ku bwenyi obw'oluggya olw'omunda ebweru, emikono kikumi, ebuvanjuba n'obukiikakkono. N'omulyango ogw'oluggya olw'ebweru ogutunuulira obukiikakkono n'agera obuwanvu bwagwo n'obugazi bwagwo. Obusenge bwagwo busatu oluuyi n'oluuyi, n'emifuubeeto gyabwo n'ebizizi byawo byali ng'ekigera eky'omulyango ogwolubereberye: obuwanvu bwagwo emikono ataano (50), n'obugazi emikono abiri mu etaano (25). Amaddirisa n'olukuubo lwabwo, n'ebifaananyi eby'enkindu, byalina ekigera kye kimu n'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba. Amadaala musanvu nga gegalinnyibwa okutuuka ku mulyango ogw'obukiikakkono, omulyango gwalina ekisasi. Era oluggya olw'omunda lwaliko omulyango ogwolekera omulyango omulala, obukiikakkono era n'ebuvanjuba; n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango emikono kikumi (100). Awo n'antwala obukiikaddyo, kale, laba, omulyango ogw'obukiikaddyo, n'agera emifuubeeto gyagwo n'ekisasi ng'ebigera ebyo bwe biri. Era kwaliko amadirisa ku gwo ne ku kisasi kyagwo, enjuyi zonna ebifaanana amadirisa ago, obuwanvu emikono ataano (50), n'obugazi emikono abiri mu etaano (25). Era waaliwo amadaala musanvu kwe baalinnyiranga, n'ekisasi kyagwo, kyali mu maaso gaago, era gwaliko n'ebifaananyi by'enkindu, eruuyi n'eruuyi ku mifuubeeto gyagwo. Era oluggya olw'omunda lwalina omulyango ogwolekera obukiikaddyo n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango okwolekera obukiikaddyo emikono kikumi (100). Awo n'antwala mu luggya olw'omunda oluliraanye omulyango ogw'obukiikaddyo ng'ebigera ebyo bwe byali; ebisenge n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo ng'ebigera ebyo bwe byali, era gwaliko amadirisa n'ekisasi kyagwo enjuyi zonna, obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25). Era waaliwo ekisasi enjuyi zonna obuwanvu bwakyo emikono abiri mu etaano (25) n'obugazi bwakyo emikono etaano. Ekisasi kyagwo kyayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyakyo gyalina ebifaananyi eby'enkindu; n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana. N'antwala mu luggya olw'omunda okwolekera obuvanjuba: n'agera omulyango ng'ebigera ebyo bwe byali; obusenge bwagwo n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo ng'ebigera ebyo bwe byali, era gwaliko amadirisa n'ekisasi kyagwo enjuyi zonna. Obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25). Ekisasi kyagwo kyayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyaliko ebifaananyi by'enkindu, eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana. N'antwala ku mulyango ogw'obukiikakkono, n'agugera ng'ebigera ebyo bwe byali; ebisenge n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo; era gwaliko amadirisa enjuyi zonna: obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25). N'emifuubeeto gyagwo gyayolekera oluggya olw'ebweru; era emifuubeeto gyagwo gyaliko ebifaananyi by'enkindu eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana. Era n'enju n'oluggi lwayo yali eriraanye ku mifuubeeto ku miryango; eyo gye baanaalizanga ekiweebwayo ekyokebwa. Ne mu kisasi eky'oku mulyango mwalimu emmeeza bbiri eruuyi n'emmeeza bbiri eruuyi okuttirangako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango. Era ku luuyi ebweru ng'olinnya awayingirirwa mu mulyango okwolekera obukiikakkono yaliyo emmeeza bbiri: ne ku luuyi olwokubiri, lwe lw'ekisasi eky'oku mulyango, yaliyo emmeeza bbiri. Waaliwo emmeeza nnya eruuyi n'emmeeza nnya eruuyi okuliraana omulyango; emmeeza munaana kwe battiranga ssaddaaka. Era waaliwo emmeeza nnya ez'ekiweebwayo ekyokebwa, ez'amayinja amateme, obuwanvu bwazo omukono ko ekitundu, n'obugazi bwazo omukono ko ekitundu, n'obugulumivu bwazo omukono gumu: kwe baateekanga ebintu bye bassisanga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka. N'ebikwaso, obuwanvu bwabyo luta, byasibibwa munda enjuyi zonna; ne ku mmeeza kwaliko ennyama ey'ekitone. Era ebweru w'oluggya olw'omunda waaliwo enju ez'abayimbi mu luggya olw'omunda olwali ku mabbali g'omulyango ogw'obukiikakkono era zaatunuulira obukiikaddyo, nga waaliwo emu ku mabbali g'omulyango ogw'obuvanjuba etunuulira obukiikakkono. Awo n'aŋŋamba nti Enju eno etunuulira obukiikaddyo ya bakabona abakuumi b'ennyumba gye balagirwa. N'enju etunuulira obukiikakkono ya bakabona abakuumi b'ekyoto kye balagirwa: abo be batabani ba Zadoki, be b'oku batabani ba Leevi abasemberera Mukama okumuweereza. N'agera oluggya, obuwanvu bwalwo emikono kikumi (100), n'obugazi bwalwo emikono kikumi (100), okwenkanankana; n'ekyoto kyali mu maaso g'ennyumba. Awo n'antwala ku kisasi eky'ennyumba, n'agera buli mufuubeeto ogw'ekisasi emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi, n'obugazi obw'omulyango bwali emikono esatu eruuyi n'emikono esatu eruuyi. Obuwanvu bw'ekisasi bwali emikono abiri (20) n'obugazi emikono kkumi na gumu (11), ng'ogera awali amadaala ge baalinnyirangako omwo, era waaliwo empagi eziriraanye emifuubeeto, emu eruuyi n'emu eruuyi. N'antwala ku Yeekaalu n'agera emifuubeeto, obugazi bwagyo emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi, bwe bwali obugazi bw'eweema. N'awayingirirwa obugazi bwawo emikono kkumi (10); n'awayingirirwa embiriizi zaawo zaali emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi, n'agera obuwanvu bwawo emikono ana (40) n'obugazi emikono abiri (20). Awo n'agenda munda n'agera buli mufuubeeto oguli awayingirirwa, emikono ebiri, n'awayingirirwa emikono mukaaga, n'awayingirirwa obugazi bwawo emikono musanvu. N'agera obuwanvu bwawo emikono abiri (20), n'obugazi bwawo emikono abiri (20), mu maaso ga Yeekaalu, n'aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.” Awo n'agera ekisenge eky'ennyumba emikono mukaaga; na buli nju ey'omu mbiriizi obugazi bwayo emikono ena, okwetooloola ennyumba enjuyi zonna. Ebisenge eby'ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu ku kinnaakyo ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge asatu (30), waliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng'empagi ezo teziyingira mu kisenge kya nnyumba. Ebisenge eby'ebbali okwebungulula ennyumba byagendanga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako nga gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga gayita ku mwaliiro ogwa wakati. Era ne ndaba ng'ennyumba yali ku kigulumu enjuyi zonna, emisingi gy'ebisenge eby'ebbali gyali olumuli olulamba olw'emikono emiwanvu mukaaga. Obugazi bw'ekisenge ekyali kyebunguludde ebisenge eby'ebbali bwali emikono etaano. Waaliwo ekibangirizi wakati w'ebisenge eby'ebbali n'ekisenge ekyebunguludde ennyumba. Okuva ku bisenge waliwo ekibangirizi kya bugazi obw'emikono abiri (20) okwetooloola ennyumba enjuyi zonna. N'enzigi ez'okubisenge eby'ebbali zali zituunudde mu kibangirizi, oluggi olumu nga lutuunudde obukiikakkono n'oluggi olulala nga lutuunudde obukiikaddyo. Ekibangirizi ekyo obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna. N'ennyumba eyali mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ku luuyi olw'ebugwanjuba obugazi bwayo bwali emikono nsanvu (70); n'ekisenge ky'ennyumba obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo emikono kyenda (90). Awo bw'atyo n'agera ennyumba, obuwanvu bwayo emikono kikumi (100); n'ekifo ekyayawulibwa n'ennyumba n'ebisenge byayo, obuwanvu bwakyo emikono kikumi (100). Era obwenyi bw'ennyumba obugazi bwabwo n'obw'ekifo ekyayawulibwa okwolekera obuvanjuba, emikono kikumi (100). N'agera ennyumba obuwanvu bwayo okuva ku kifo ekyayawulibwa ekyali emmanju waayo n'embalaza zaayo eruuyi n'eruuyi, emikono kikumi (100); ne Yeekaalu ey'omunda n'ekisasi eky'omu luggya; emiryango n'amadirisa agaazibibwa n'embalaza enjuyi zonna, okwolekera omulyango, byonna byabikkibwako embaawo, enjuyi zonna n'okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa; era n'amadirisa gaabikkibwako; n'okutuuka ku bbanga eryali waggulu w'oluggi, okutuuka ku nnyumba ey'omunda n'ebweru ne ku kisenge kyonna enjuyi zonna munda n'ebweru, okugerebwa kwabyo. Era yakolebwa ne bakerubi n'enkindu; n'olukindu lwateekebwa wakati wa bakerubi kinnababirye, na buli kerubi yalina ebyenyi bibiri. obwenyi bw'omuntu nga bwolekedde olukindu oluuyi olumu, n'obwenyi bw'empologoma nga bwolekedde olukindu oluuyi olulala. bwe bityo bwe byakolebwa okubuna ennyumba yonna enjuyi zonna. Bakerubi n'enkindu byakolebwa okuva ku ttaka okutuuka waggulu w'oluggi; ekisenge kya Yeekaalu bwe kyali bwe kityo. Yeekaalu emifuubeeto gyayo gyaliko empe nnya; n'obwenyi bw'awatukuvu enfaanana yaabwo yali ng'enfaanana eya Yeekaalu. Ekyoto kyali kya miti, obugulumivu bwakyo emikono esatu n'obuwanvu bwakyo emikono ebiri; n'ensonda zaakyo n'obuwanvu bwakyo n'ebisenge byakyo byali bya miti: n'aŋŋamba nti, “Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Mukama.” Era Yeekaalu n'awatukuvu byalina enzigi bbiri. N'enzigi zaali za mbaawo bbiri, embaawo bbiri ezeefunya; embaawo bbiri za luggi lumu, n'embaawo bbiri za luggi olwokubiri. Era kwakolebwako, ku nzigi za Yeekaalu, bakerubi n'enkindu, ng'ebyakolebwa ku bisenge; era ku bwenyi bw'ekisasi ebweru kwaliko embaawo ez'emiti ez'omubiri omunene. Era waaliwo amadirisa agaazibibwa n'enkindu eruuyi n'eruuyi, ku njuyi z'ekisasi, ebisenge eby'ebbali eby'omu nnyumba byalina embaawo ez'omubiri omunene. Awo omusajja n'ankulemberamu n'antwala mu luggya olw'ebweru, ku luuyi olw'obukiikakkono, n'annyingiza mu nju eyayolekera ekifo ekyayawulibwa era eyayolekera ennyumba ku luuyi olw'obukiikakkono. Mu maaso g'obuwanvu buli obw'emikono ekikumi (100) we waali oluggi olw'obukiikakkono, n'obugazi bwali emikono ataano (50). Okwolekera emikono abiri (20) giri egy'oluggya olw'omunda n'okwolekera amayinja amaaliire gali ag'omu luggya olw'ebweru we waali olubalaza okwolekera olubalaza lunnaalwo mu nju eya waggulu ey'okusatu. Ne mu maaso g'amayu gali waaliwo ekkubo obugazi bwalyo emikono kkumi munda (10), ekkubo lya mukono gumu; n'enzigi zaago zaayolekera obukiikakkono. Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebya wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi n'egya wakati mu nnyumba. Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalina mpagi, n'olwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati. N'ekisenge ekyali ebweru ekyaliraana amayu okwolekera oluggya olw'ebweru mu maaso g'amayu obuwanvu bwakyo bwali emikono ataano (50). Kubanga obuwanvu bw'amayu agaali mu luggya olw'ebweru bwali emikono ataano (50) era, laba, mu maaso ga Yeekaalu waaliwo emikono kikumi (100). Era wansi w'amayu ago we baavanga okuyingira ku luuyi olw'ebuvanjuba, ng'oyingira mu go ng'ova mu luggya olw'ebweru. Ku mubiri gw'ekisenge eky'oluggya okwolekera obuvanjuba, mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ne mu maaso g'ennyumba, kwaliko amayu. N'ekkubo eryali mu maaso gaago lyali ng'enfaanana ey'ekkubo ery'amayu agayolekera obukiikakkono, ng'obuwanvu bwago, n'obugazi bwago bwe bwali bwe butyo, n'awafulumirwa mu go wonna waali ng'engeri zaago bwe zaali era ng'enzigi zaago bwe zaali. Era ng'enzigi ez'amayu agayolekera obukiikaddyo bwe zaali, oluggi bwe lwali bwe lutyo ekkubo we lisibuka eriri ddala mu bwenyi bw'ekisenge ebuvanjuba bw'oyingira mu go. Awo n'aŋŋamba nti Amayu ag'obukiikakkono n'amayu ag'obukiikaddyo agoolekedde ekifo ekyayawulibwa ago ge mayu amatukuvu, bakabona abali okumpi ne Mukama mwe banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo, eyo gye banaateekanga ebintu ebitukuvu ennyo n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu. Bakabona bwe banaayingirangamu, kale tebavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luggya olw'ebweru, naye banaateekanga eyo ebyambalo byabwe bye baweererezaamu; kubanga bitukuvu; kale banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ekyo eky'abantu. Awo bwe yamala okugera ennyumba ey'omunda, n'anfulumya mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba, n'agigera enjuyi zonna. N'agera ku luuyi olw'ebuvanjuba n'olumuli olwo olugera, emmuli bitaano (500), n'olumuli olugera enjuyi zonna. N'agera ku luuyi olw'obukiikakkono n'olumuli olugera, emmuli bitaano (500) enjuyi zonna. N'agera ku luuyi olw'obukiikaddyo emmuli bitaano (500), n'olumuli olugera. N'akyukira eri oluuyi olw'ebugwanjuba n'agera emmuli bitaano (500), n'olumuli olugera. Yagigera enjuyi ennya, yalina bbugwe enjuyi zonna, obuwanvu bitaano (500) n'obugazi bitaano (500), okwawula ebitukuvu n'ebitali bitukuvu. Awo oluvannyuma n'antwala eri omulyango, omulyango ogwo ogutunuudde ebuvanjuba. Kale, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri nga kijja nga kiva mu kkubo ery'ebuvanjuba, n'eddoboozi lye lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye. Era kyali ng'embala ey'okwolesebwa kwe nnalaba, ng'okwolesebwa kwe nnalaba bwe yajja okuzikiriza ekibuga, era okwolesebwa kwali ng'okwolesebwa kwe nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali, awo ne nvuunama amaaso gange. Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu nnyumba nga kifuluma mu kkubo ery'omulyango ogutunuudde ebuvanjuba. Omwoyo ne gunsitula ne gundeeta mu luggya olw'omunda; kale, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba. Awo ne mpulira ayogera nange ng'ayima mu nnyumba; omusajja n'ayimirira ku mabbali gange. Awo n'aŋŋamba nti, Omwana w'omuntu, kino kye kifo eky'entebe yange, n'ekifo ebigere byange we birinnya, we nnaabeeranga wakati mu baana ba Isiraeri emirembe gyonna: so n'ennyumba ya Isiraeri terigwagwawaza nate erinnya lyange ettukuvu, bo newakubadde kabaka waabwe, olw'obwenzi bwabwe n'olw'emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu; nga bateeka omulyango gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange, n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omufuubeeto gwange, ekisenge ekyereere ekyawula nze nabo; era bagwagwawazizza erinnya lyange ettukuvu n'emizizo gyabwe gye bakola, kye nnava mbamalawo n'obusungu bwange. Kaakano baggyeewo obwenzi bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe okuba ewala nange, nange nnaabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna. “Ggwe omwana w'omuntu, nnyonnyola ennyumba ya Isiraeri endabika ne ntegeka ya Yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw'obutali butuukirivu bwabwe. Awo bwe banaakwatibwa ensonyi olwa byonna bye bakoze, bategeeze Yeekaalu bw'efaanana n'engeri yaayo n'awafulumirwa n'awayingirirwa n'embala zaayo zonna n'ebiragiro byayo byonna n'amateeka gaayo gonna, ogiwandiike bo nga balaba, balyoke bagikwate yonna nga bw'efaanana n'ebiragiro byayo byonna, babikolenga. Lino lye tteeka lya Yeekaalu, ku ntikko y'olusozi embibi zaayo yonna enjuyi zonna eriba ntukuvu nnyo. Laba, eryo lye tteeka lya Yeekaalu.” “Era kuno kwe kugerebwa kw'ekyoto ng'emikono bwe gyenkana: omukono gwe mukono ko n'oluta, entobo eriba ya mukono gumu, n'obugazi mukono gumu, n'omugo gwe kyoto ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa luta, era eyo ye eneeba entobo y'ekyoto. N'okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi waliba emikono ebiri n'obugazi omukono gumu; n'okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene waliba emikono ena n'obugazi omukono gumu. N'ekyoto ekya waggulu kiriba kya mikono ena, n'okuva ku kyoto wansi n'okwambukayo waliba amayembe ana. N'ekyoto wansi kiriba emikono kkumi n'ebiri (12) obuwanvu, n'ekkumi n'ebiri (12) obugazi, enjuyi zaakyo ennya nga zenkanankana. N'omugo guliba emikono kkumi n'ena (14) obuwanvu, n'ekkumi n'ena (14) obugazi, mu njuyi zaagwo ennya; n'omugo ogugwetooloola guliba kitundu kya mukono; n'entobo yaagwo eriba omukono gumu enjuyi zonna; n'amadaala gaagwo galitunuulira ebuvanjuba.” N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Bino bye biragiro eby'ekyoto ku lunaku lwe balikikola, okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa n'okumansirangako omusaayi. Bakabona, Abaleevi ab'oku zzadde lya Zadoki abandi okumpi, olibawa ente envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okumpeereza, bw'ayogera Mukama Katonda. Era olitoola ku musaayi gwayo n'oguteeka ku mayembe gaakyo ana ne ku nsonda ennya ez'omugo ne ku mugo ogwetooloola; bw'otyo bw'onookirongoosanga n'okitangirira. Era otwalanga ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'ogyokera mu kifo eky'ennyumba ekyalagirwa ebweru w'awatukuvu. Awo ku lunaku olwokubiri onoowangayo embuzi ennume eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi; ne balongoosa ekyoto nga bwe bakirongoosa n'ente. Bw'olimala okukirongoosa, owangayo ente envubuka eteriiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo. N'obisembeza mu maaso ga Mukama, bakabona ne bamansirako omunnyo ne babiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Mu nnaku omusanvu onootegekerangamu buli lunaku embuzi okuba ekiweebwayo olw'ekibi, era onootegekanga ente envubuka n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo. Ennaku musanvu banaatangiriranga ekyoto bakirongoose; bwe batyo bwe baba bakyawula. Awo bwe balimala ennaku ezo, olulituuka ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona baweerengayo ku kyoto ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe olw'emirembe; nange ndibakkiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.” Awo n'anzizaayo mu kkubo ery'omulyango ogw'ebweru ogw'awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; omulyango nga muggale. Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Omulyango guno guliggalwawo, teguliggulwawo so tewaliba muntu aliyingirira mu gwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiridde omwo; kye gunaavanga guggalwawo. Omulangira yekka yanatuulanga omwo n'aliira emmere mu maaso ga Mukama; era anaayingiranga ng'ayita mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango, ne mu kkubo eryo mwaanaafulumiranga.” Awo n'antwala mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikakkono mu maaso Yeekaalu ne ntunula, kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde Yeekaalu ya Mukama; ne nvuunama. Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “ Omwana w'omuntu tunula weetegereze nnyo, owulirize bulungi ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna eby'omu Yeekaalu ya Mukama n'amateeka gaayo gonna; era weetegereze nnyo awayingirirwa mu Yeekaalu na buli awafulumirwa mu watukuvu. Era ogambanga abajeemu, ogambanga ennyumba ya Isiraeri nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ayi mmwe ennyumba ya Isiraeri, emizizo gyammwe gyonna gibamale, kubanga muyingizizza bannamawanga abatali bakomole mu mutima era abatali bakomole mu mubiri, okubeera mu watukuvu wange, okwonoonawo, ennyumba yange, bwe muwaayo emmere yange, amasavu n'omusaayi, era bo bamenye endagaano yange, okwongera ku mizizo gyammwe gyonna. So temukuumye bintu byange ebitukuvu bye mwalagirwa, naye mweteekeddewo mwekka abakuumi b'ebyo bye nnalagira mu watukuvu wange.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Tewaliba munnamawanga, atali mukomole mu mutima era atali mukomole mu mubiri, aliyingira mu watukuvu wange, munnamawanga yenna anaabanga mu baana ba Isiraeri. Naye Abaleevi abanneesambira ddala, Isiraeri bwe yawaba, abaawaba okunvaako okugoberera ebifaananyi byabwe; abo balibaako obutali butuukirivu bwabwe. Era naye baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gya Yeekaalu era nga baweerereza mu Yeekaalu; abo be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka, era banaayimiriranga mu maaso gaabwe okubaweereza. Kubanga baabaweererezanga mu maaso g'ebifaananyi byabwe ne bafuuka nkonge ey'obutali butuukirivu eri ennyumba ya Isiraeri; kyenvudde mbayimusizaako omukono gwange, bw'ayogera Mukama Katonda, era balibaako obutali butuukirivu bwabwe. So tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona gye ndi, newakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu, naye balibaako ensonyi zaabwe n'emizizo gyabwe gye baakolanga. Era naye ndibafuula abakuumi ba Yeekaalu gye baliragirwa, olw'okuweereza kwamu kwonna n'olwa byonna ebirikolebwa omwo.” “Naye bakabona, Abaleevi, batabani ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagirwa, abaana ba Isiraeri bwe baawaba okunvaako, abo be balinsemberera okumpeereza; era banaayimiriranga mu maaso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'omusaayi, bw'ayogera Mukama Katonda: abo banaayingiranga mu watukuvu wange, era banaasembereranga emmeeza yange okumpeereza, era banaakuumanga ebyo bye ndibalagira. Awo olunaatuukanga bwe banaayingiranga mu miryango egy'oluggya olw'omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya bafuta; so tewaabenga byoya bye banaayambalanga bwe banaabanga nga baweerereza mu miryango egy'oluggya olw'omunda ne munda wa Yeekaalu. Banaabanga n'ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga seruwale eza bafuta mu biwato byabwe; tebeesibenga kintu kyonna ekituuyanya. Awo bwe banaafulumanga mu luggya olw'ebweru, eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu nju entukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, balemenga okutukuza abantu n'ebyambalo byabwe. So tebamwanga mitwe gyabwe, so tebakuzanga nviiri zaabwe naye banaasalanga busazi enviiri ez'oku mitwe gyabwe. So ne kabona yenna tanywanga mwenge nga bayingira mu luggya olw'omunda. So tebawasanga nnamwandu newakubadde eyagobebwa bba, naye bawasenga abawala abatamanyi musajja ab'oku zzadde ery'ennyumba ya Isiraeri, oba nnamwandu eyali muka kabona. Era banaayigirizanga abantu bange enjawulo bw'eri ey'ekitukuvu n'ekitali kitukuvu, ne babalaga enjawulo wakati w'ekitali kirongoofu n'ekirongoofu. N'awali empaka be banaayimiriranga okusala omusango; ng'emisango gyange bwe giri bwe banaazisalanga, era bakwatenga amateeka gange n'ebiragiro byange mu mbaga zange zonna ezaalagirwa; era batukuzenga Ssabbiiti zange. So tebasembereranga mufu yenna okweyonoonesa, naye olwa kitaabwe oba nnyaabwe oba mutabani waabwe oba muwala waabwe, olwa muganda waabwe oba mwannyinaabwe atabanga na bba, bayinza okweyonoona. Awo bw'amalanga okulongoosebwa, bamubalirenga ennaku musanvu. Awo ku lunaku lw'anaayingiranga mu watukuvu, mu luggya olw'omunda, okuweerereza mu watukuvu, anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ekibi, bw'ayogera Mukama Katonda. Era baliba n'obusika; nze ndi busika bwabwe, so temubawanga butaka mu Isiraeri; nze butaka bwabwe. Banaalyanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kinaabanga kyabwe. N'ebisooka ku bibala byonna ebibereberye ku byonna na buli kitone ekya buli kintu ku bitone byammwe byonna binaabanga bya bakabona, era munaawanga kabona obutta bwammwe obugoyebwa obusooka, okutuuza omukisa ku nnyumba yo. Bakabona tebalyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka newakubadde eyataagulwa oba nnyonyi oba nsolo.” “Era nate bwe muligabana n'obululu ensi okuba obusika, muwangayo ekitone eri Mukama, omugabo gw'ensi omutukuvu: obuwanvu bwagwo buliba buwanvu obw'emmuli emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'obugazi emitwalo ebiri (20,000), guliba mutukuvu mu nsalo yaagwo yonna okwetooloola. Ku gwo kuliggibwako olw'ekifo ekitukuvu bitaano (500) obuwanvu n'ebitaano (500) obugazi okwenkanankana enjuyi zonna, n'emikono ataano (50) olw'embuga yaako enjuyi zonna. Era oligeza ekigera kino, obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obugazi omutwalo gumu (10,000), n'omwo mwe muliba awatukuvu, awatukuvu ennyo. Ogwo gwe mugabo gw'ensi omutukuvu; guliba gwa bakabona, abaweereza ab'omu watukuvu, abasembera okuweereza Mukama; era kiriba kifo kya nnyumba zaabwe, era ekifo ekitukuvu eky'awatukuvu. Kale Abaleevi, abaweereza ab'omu nnyumba, baliba n'emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) obuwanvu, n'omutwalo gumu (10,000) obugazi, okuba obutaka bwabwe, okuzimbamu ennyumba abiri (20).” “Era muteekangawo obutaka obw'ekibuga, enkumi ttaano (5,000) obugazi n'emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) obuwanvu, okuliraana ekitone eky'omugabo omutukuvu, buliba bwa nnyumba yonna eya Isiraeri. Era buli ekiriba eky'omulangira kiriba ku mabbali g'omugabo omutukuvu n'obutaka obw'ekibuga eruuyi n'eruuyi, mu maaso g'ekitone ekitukuvu ne mu maaso g'obutaka obw'ekibuga, ku luuyi olw'ebugwanjuba ebugwanjuba, ne ku luuyi olw'ebuvanjuba ebuvanjuba, n'obuwanvu nga kyenkana n'omugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'ebuvanjuba. Buliba butaka gy'ali mu nsi mu Isiraeri, so n'abalangira tebalijooga nate abantu bange; naye baliwa ennyumba ya Isiraeri ensi ng'ebika byabwe bwe biri.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kibamale, ayi abalangira ba Isiraeri, muggyeewo ekyejo n'okunyaga, mutuukirize omusango n'eby'ensonga; abantu bange mubaggyeeko obukamuzi bwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda. Mubanga ne minzaani ey'amazima ne efa ey'amazima n'ensuwa ey'amazima. Efa n'ensuwa bibenga bya kigera kimu, ensuwa egyemu ekitundu eky'ekkumi eky'ekomeri: ekigera kyayo kiba ng'ekomeri bw'eri. Ne sekeri eriba gera abiri (20): Sekeri abiri (20) ne sekeri abiri mu ttaano (25) ne sekeri kkumi na ttaano (15), mina yammwe bw'eriba bw'etyo. Kino kye kitone kye munaawangayo; ekitundu eky'omukaaga ekya efa ekiggibwa ku komero ey'eŋŋaano, era munaawanga ekitundu eky'omukaaga ekya efa ku buli komeri eya sayiri, n'omugabo ogw'amafuta ogulagirwa, ogw'oku nsuwa ey'amafuta, gunaabanga kitundu kya kkumi eky'ensuwa, ekiggibwa ku kooli, ze nsuwa kkumi ye komeri. Omwana gw'endiga ogumu ogw'omu kisibo, oguggibwa ku bikumi bibiri (200), ku malundiro amagimu aga Isiraeri; olw'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okubatangiriranga, bw'ayogera Mukama Katonda. Abantu bonna ab'omu nsi banaawanga olw'ekitone ekyo olw'omulangira mu Isiraeri. Era omulangira ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'obutta n'ebiweebwayo eby'okunywa ku mbaga ne ku myezi egyakaboneka ne ku Ssabbiiti, ku mbaga zonna ezaalagirwa ez'ennyumba ya Isiraeri: ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isiraeri.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye oddiranga ente envubuka eteriiko bulema n'ogiwaayo okulongoosa awatukuvu. Ne kabona atoolenga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi n'aguteeka ku mifuubeeto gy'ennyumba ne ku nsonda ennya ez'omugo ogw'ekyoto ne ku mifuubeeto egy'oku mulyango ogw'oluggya olw'omunda. Era okolanga bw'otyo ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu olwa buli muntu asobya n'oyo atalina magezi, bwe mutyo bwe munaatangiriranga Yeekaalu. Mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ennya mubenga n'Okuyitako, embaga ey'ennaku omusanvu; emigaati egitazimbulukusiddwa gye ginaaliibwanga. Awo ku lunaku olwo omulangira yeetegekerenga yennyini n'abantu bonna ab'omu nsi ente okuba ekiweebwayo olw'ekibi. Ne mu nnaku omusanvu ez'embaga ategekenga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente musanvu n'endiga ennume musanvu ezitaliiko bulema, buli lunaku okumalako ennaku omusanvu; n'embuzi ennume buli lunaku okuba ekiweebwayo olw'ekibi. Era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ku buli nte, ne efa ku buli ndiga ennume, ne efa ku buli yini ey'amafuta. Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano (15) mu mbaga akolenga bw'atyo okumala ennaku omusanvu; ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'amafuta nga bwe gali.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw'oluggya olw'omunda ogutunuudde ebuvanjuba gunaaggalibwanga okumala ennaku omukaaga ezikolerwamu emirimu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti banaaguggulanga ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka banaaguggulanga. Era omulangira anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango ogw'ebweru, n'ayimirira awali omufuubeeto ogw'omulyango, ne bakabona bategekenga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye ebiweebwayo olw'emirembe, n'asinziza awayingirirwa ow'omulyango; kale n'afuluma, naye omulyango tebaguggalangawo okutuusa akawungeezi. N'abantu ab'omu nsi basinzizenga ku luggi olw'omulyango ogwo mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. N'ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky'anaawangayo eri Mukama kinaabanga ku lunaku olwa Ssabbiiti abaana b'endiga mukaaga abataliiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema; n'ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku ndiga ennume, n'ekiweebwayo eky'obutta ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta. Ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka kinaabanga ente envubuka eteriiko bulema; n'abaana b'endiga mukaaga n'endiga ennume; zinaabanga ezitaliiko bulema: era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ku nte, ne efa ku ndiga ennume, ne ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga, na buli efa yini ya mafuta. Era omulangira bw'anaayingiranga, anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango, era anaafulumanga ng'ayita mu kkubo omwo.” “Naye abantu ab'omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama mu mbaga ezaalagirwa, oyo anaayingiranga ng'ayita mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikkakkono okusinza anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikaddyo, n'oyo anaayingiranga ng'ayita mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikaddyo anaavangamu ng'ayita mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikakkono, taddirangayo mu kkubo ery'omulyango mwe yayingirira, naye avengamu nga yeesimbye mu maaso ge. N'omulangira, bwe banaayingirangamu, anaagenderanga wakati mu bo; era bwe banaavangamu, banaaviirangamu wamu.” “Ne mu mbaga ne ku nnaku enkulu ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku nte ne efa ku ndiga ennume ne ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta. Era omulangira bw'anaategekanga ekyo ky'anaawangayo ku bubwe, ekiweebwayo ekyokebwa oba ebiweebwayo olw'emirembe okuba ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama, banaamuggulirangawo omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, era anaategekanga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye by'awaayo ku bubwe nga bw'akola ku lunaku olwa Ssabbiiti, kale afulumenga; awo ng'amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango.” “Era otegekanga omwana gw'endiga ogwakamala omwaka ogumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama buli lunaku, ekyo kinakolebwanga buli nkya. Era otegekanga wamu nagwo ekiweebwayo eky'obutta buli nkya, ekitundu eky'ekkumi ekya efa n'ekitundu eky'okusatu ekya yini ey'amafuta, okunnyikiza obutta obulungi; ekiweebwayo eky'obutta eri Mukama eky'olutata olw'ekiragiro ekitaliggwaawo. Bwe batyo bwe baba bategekanga omwana gw'endiga n'ekiweebwayo eky'obutta n'amafuta, buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'olutata.” “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulangira bw'anaawanga ekirabo mutabani we yenna, nga bwe busika bwe, buliba bwa batabani be; butaka bwabwe olw'obusika. Naye bw'anaawanga ku busika bwe omuddu we yenna ekirabo, kiriba kikye okutuuka ku mwaka ogw'eddembe; ne kiryoka kidda eri omulangira; naye obusika bwe, obwo buliba bwa batabani be. Era nate omulangira tatwalanga ku busika obw'abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaawanga batabani be obusika ng'abuggya ku butaka bwe ye, abantu bange balemenga okusaasaana buli muntu okuva ku butaka bwe.” Awo n'ampisa awayingirirwa ku mabbali g'omulyango n'anyingiza mu nju entukuvu eza bakabona ezaatunuulira obukiikakkono era, laba, waaliwo ekifo ku luuyi olusembayo ebugwanjuba. N'aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw'omusango n'ekiweebwayo olw'ekibi, we banaayokeranga ekiweebwayo eky'obutta; baleme okubifulumya mu luggya olw'ebweru okutukuza abantu.” Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, n'ampisa ku nsonda ennya ez'oluggya; era, laba, mu buli nsonda ey'oluggya nga mulimu oluggya. Mu nsonda ennya ez'oluggya mwalimu empya ezaakomerwa, obuwanvu bwazo emikono ana (40) n'obugazi asatu (30), ezo ennya ezaali mu nsonda zaali za kigera kimu. Era waaliwo olubu oluzimbibwa olw'etoolodde mu zo okuzeetooloola ezo ennya, era lwakolebwa nga lulimu ebifo eby'okufumbiramu wansi w'embu enjuyi zonna. Awo n'aŋŋamba nti, “Zino ze nnyumba ez'okufumbirangamu, abaweereza ab'ennyumba we banaafumbiranga ssaddaaka ey'abantu.” Awo n'anzizaayo ku luggi lwa Yeekaalu ne ndaba amazzi nga gava wansi w'omulyango gwa Yeekaalu ebuvanjuba, kubanga obwenyi bwa Yeekaalu bwali bwolekera ebuvanjuba, amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo ku luuyi olw'ekyoto olw'obukiikaddyo. Awo n'anfulumiza mu kkubo ery'omulyango obukiikakkono, n'antwala n'anneetoolooza mu kkubo ery'ebweru okutuuka ku mulyango ogw'ebweru mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olwa ddyo. Omusajja bwe yavaamu ng'agenda ebuvanjuba ng'akutte omugwa mu mukono gwe, n'agera emikono lukumi (1,000), n'ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu bukongovvule. Nate n'agera lukumi (1,000), n'ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu maviivi. Nate n'agera lukumi (1,000), n'ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu kiwato. Oluvannyuma n'agera lukumi (1,000), naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde, era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogutasomokeka. N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, olabye?” Awo n'anzizaayo ku lubalama lw'omugga. Awo bwe nnali nga nzizeeyo, laba, ku lubalama lw'omugga nga kuliko emiti mingi nnyo eruuyi n'eruuyi. Awo n'aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta okugenda mu nsi ez'ebuvanjuba, ne gaserengeta mu Alaba, ne gayingira mu nnyanja. Omugga bwe guyiwa mu nnyanja amazzi ne galongooka. Awo olulituuka buli kintu kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag'omu nnyanja ey'omunnyo okuba amalungi, n'olwekyo omugga gye guyita ebintu byonna binaabeeranga biramu. Awo olulituuka abavubi baliyimirira ku lubalama lwagwo okuva e Engedi okutuuka e Negulayimu, era walibeerayo ekifo eky'okusuuliramu emigonjo; eby'ennyanja byabwe biriba ng'engeri zaabyo bwe biriba, okwenkana ebyennyanja ebiri mu nnyanja ennene, bingi nnyo nnyini. Naye ebifo eby'ettosi n'entobazzi tebirirongooka, birisigala nga bya munnyo. Era ku mugga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli muti ogubaako emmere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'ebibala byagwo tebiriggwaawo, gulibala ebibala biggya buli mwezi kubanga amazzi gaagwo gava mu watukuvu, n'ebibala byagwo biriba mmere, n'amalagala gaagwo galiba ga ddagala kuwonya.” Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Eno ye eriba ensalo gye muligabanirako ensi okuba obusika ng'ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri bwe biri, ne kika kya Yusufu kiriweebwa emigabo ebiri. Nammwe muligigabana kyenkanyi, ensi gye nnalayirira bajjajjammwe okugibawa okuba obusika bwabwe.” “Era eno ye eriba ensalo y'ensi: ku luuyi olw'obukiikakkono okuva ku mabbali g'ekkubo ery'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi; Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'ensalo y'e Ddamasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani. N'ensalo eva ku nnyanja eriba Kazalenooni awali ensalo y'e Ddamasiko, ne ku luuyi olw'obukiikakkono ye eri ensalo y'e Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'obukiikakkono.” “N'oluuyi olw'ebuvanjuba wakati w'e Kawulaani ne Ddamasiko ne Gireyaadi n'ensi ya Isiraeri luliba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'obukiikakkono okutuuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba. Olwo lwe luuyi olw'ebuvanjuba. N'oluuyi olw'obukiikaddyo eri obukiika obwa ddyo luliva ku Tamali okutuuka ku mazzi ag'e Meribosukadesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene. Olwo lwe luuyi olw'obukiikaddyo mu busimba bwabwo.” “N'oluuyi olw'ebugwanjuba luliba nnyanja nnene okuva ku nsalo ey'obukiikaddyo okutuuka awayolekera awayingirirwa mu Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'ebugwanjuba. Bwe mutyo bwe muligabana ensi eno mwekka na mwekka, ng'ebika bya Isiraeri bwe biri. Awo olulituuka muligigabana n'obululu okuba obusika gye muli n'eri bannamawanga abaabeera mu mmwe abalizaala abaana mu mmwe; kale baliba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; baliba n'obusika wamu nammwe mu bika bya Isiraeri. Awo olulituuka mu buli kika munnaggwanga mw'anaabeeranga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'ayogera Mukama Katonda.” Era gano ge mannya g'ebika: okuva ku nsalo ey'obukiikakkono, ku mabbali g'ekkubo Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Ddamasiko, ku luuyi olw'obukiikakkono ku mabbali ag'e Kamasi; era baliba n'embiriizi zaabwe nga zitunuulira ebuvanjuba n'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddani. N'awali ensalo ya Ddaani, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Aseri. N'awali ensalo ya Aseri, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Nafutaali. N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Manase. N'awali ensalo ya Manase, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Efulayimu. N'awali ensalo ya Efulayimu, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Lewubeeni. N'awali ensalo ya Lewubeeni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Yuda. Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, we waliba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo emmuli emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obuwanvu nga bwenkana ogumu ku migabo, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba: n'awatukuvu waliba mu kyo wakati. Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiriba obuwanvu bwakyo emmuli emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'obugazi omutwalo gumu (10,000). N'ekitone ekitukuvu kiriba kya bakabona; eri obukiikakkono obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'eri obugwanjuba obugazi omutwalo gumu (10,000), n'eri obuvanjuba obugazi omutwalo gumu (10,000), n'eri obukiikaddyo obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'awatukuvu wa Mukama waliba wakati mu kyo. Kiriba kya bakabona abaatukuzibwa ab'oku batabani ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nnalagira; abatawabanga abaana ba Isiraeri bwe baawaba, nga Abaleevi bwe baawaba. Era kiriba gyebali ekitone ekiggibwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu ennyo, awali ensalo ey'Abaleevi. n'Abaleevi baliba n'ekitundu ekyenkana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obugazi omutwalo gumu (10,000), obuwanvu bwonna buliba emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obugazi omutwalo gumu (10,000). So tebakitundanga so tebakiwaanyisanga, so n'ebibala ebibereberye eby'ensi tebifuukanga bya balala, kubanga kitukuvu eri Mukama. N'enkumi ettaano (5,000) ezifisseewo mu bugazi mu maaso g'emitwalo ebiri mu enkumi ettaano (25,000) ziriba za bantu bonna okulya, za kibuga, za kubeerwamu era za mbuga, era ekibuga kiriba wakati omwo. Era kuno kwe kuliba okugerebwa kwawo; olubiriizi olw'obukiikakkono enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'olubiriizi olw'obukiikaddyo enkumi nnya mu bitaano (4,500), ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'olubiriizi olw'obugwanjuba enkumi nnya mu bitaano (4,500). Era ekibuga kiribaako embuga; eri obukiikakkono bibiri mu ataano (250), n'eri obukiikaddyo bibiri mu ataano (250), n'eri obuvanjuba bibiri mu ataano (250), n'eri obugwanjuba bibiri mu ataano (250). N'obuwanvu obufisseewo obwenkana ekitone ekitukuvu buliba omutwalo gumu (10,000) ebuvanjuba n'omutwalo gumu (10,000) ebugwanjuba, era bulyenkana ekitone ekitukuvu; n'ebibala byamu biriba bya kulya eri abo abakola emirimu mu kibuga. N'abo abakola emirimu mu kibuga ab'omu bika byonna ebya Isiraeri banaakirimanga. Ekitone kyonna kiriba obugazi emitwalo ebiri enkumi ttaano (25,000) n'obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyenkanankana enjuyi zonna, wamu n'obutaka obw'ekibuga. N'ekitundu ekifisseewo kiriba kya mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'eruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maaso emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, n'ebugwanjuba mu maaso emitwalo ebiri mu enkumi ettaano (25,000) okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, okwenkana emigabo, kye kiriba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu awa Yeekaalu wakati omwo. Era nate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'okuva ku butaka obw'ekibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'ensalo ya Yuda n'ensalo ya Benyamini, waliba wa mulangira. N'ebika ebirala birigabana bwe biti: okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini. N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Simyoni. N'awali ensalo ya Simyoni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Isakaali. N'awali ensalo ya Isakaali okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Zebbulooni. N'awali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Gaadi. N'awali ensalo ya Gaadi, ku lubiriizi olw'obukiikaddyo, mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'etuuka ku mazzi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene. Eyo ye nsi gye muligabanira n'obululu ebika bya Isiraeri okuba obusika, era egyo gye migabo gyabwe kinnakimu, bw'ayogera Mukama Katonda. Era wano ekibuga we kikoma; ku lubiriizi olw'obukiikakkono emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500) ezigerebwa, n'emiryango egy'ekibuga giriba ng'amannya g'ebika bya Isiraeri; emiryango esatu nga gitunuudde e bukiikakkono, omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu n'omulyango gwa Leevi gumu. Ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500); n'emiryango esatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu n'omulyango gwa Ddaani gumu. Ne ku lubiriizi olw'obukiikaddyo emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500) ezigerebwa; n'emiryango esatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu n'omulyango gwa Zebbulooni gumu. Ku lubiriizi olw'obugwanjuba emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'emiryango gyabwe esatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu n'omulyango gwa Nafutaali gumu. Kiriba kya mmuli omutwalo gumu mu kanaana (18,000) okwetooloola, n'erinnya ery'ekibuga okuva ku lunaku olwo liriba nti, Mukama ali omwo. Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ajja e Yerusaalemi, n'akizingiza. Mukama n'awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n'ebintu ebimu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'abitwala mu nsi y'e Sinaali n'abiteeka mu ggwanika ery'omu ssabo lya katonda we. Kabaka n'alagira Asupenaazi omukulu w'abalaawe be, alonde mu ba Isiraeri abawambe, abamu ku balenzi ab'olulyo olulangira, n'abamu ku batabani b'abakungu: abavubuka abataaliko bulema, abalabika obulungi, abagezi, era abangu okuyigirizibwa, era abakabakaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka, abayigirize amagezi ag'Abakaludaaya n'olulimi lwabwe. Kabaka n'abalagira baweebwenga buli lunaku ku mmere ya kabaka, ne ku mwenge gwe yanywanga, babaliisenga bwe batyo okumala emyaka esatu, bwe giriggwaako balyoke bagende baweereze kabaka. Mu abo abaalondebwa mwe mwali Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya, bonna baali ba mu kika kya Yuda. Omukulu w'abalaawe n'abatuuma amannya amaggya: Danyeri n'amutuuma Berutesazza, Kananiya n'amutuuma Saddulaaki, Misayeri n'amutuuma Mesaki ne Azaliya n'amutuuma Abeduneego. Naye Danyeri n'ateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga ng'alya ku mmere, era ng'anywa ku mwenge ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n'asaba Asupenaazi amukirize aleme okweyonoonyesanga. Ne Katonda n'awa Danyeri okwagalibwa n'okusaasirwa Asupenaazi omukulu w'abalaawe ba kabaka. Omukulu w'abalaawe n'agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga. Singa anaabalaba nga mukozze, nga temulabika bulungi nga abavubuka bannammwe abalala, kabaka ayinza okunzita.” Awo Danyeri n'agamba omusigire, omukulu w'abalaawe gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya nti, “Nkwegayiridde otugezese okumala ennaku kkumi, nga otuwa enva endiirwa n'amazzi ag'okunywa byokka. N'oluvannyuma otugerageranye n'abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke osalewo eky'okukola ng'osinzira ku ndabika gye tuliba tulabikamu.” Awo omusigire n'akkiriza okubagezesa okumala ennaku kkumi nga bwe bamusaba. Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali balabika bulungi, era nga bagezze okusinga abavubuka abalala bonna abaalyanga ku mmere ya kabaka. Awo omusigire n'abaggya ku emmere ne ku mwenge gwe bandibadde banywa, n'abawa nva ndiirwa zokka. Abavubuka abo abana, Katonda n'abawa amagezi n'okutegeera eby'okuyiga bye baali bayigirizibwa byonna: Danyeri n'asukkirira mu kutegeeranga okwolesebwa okw'engeri zonna, n'okuvvuunulanga ebirooto. Awo ekiseera kabaka Nebukadduneeza kye yalagira baleetebwe mu maaso ge, bwe kyatuuka, omukulu w'abalaawe n'abamwanjulira. Kabaka n'anyumya nabo, era mu bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya: kyebaava bafuulibwa abaweereza ba kabaka. Mu buli kigambo eky'amagezi n'eky'okutegeera, kabaka kye yababuuza, yabalaba nga basinga emirundi kkumi (10) abasawo n'abafumu bonna abaali mu bwakabaka bwe bwonna. Awo Danyeri n'asigala mu lubiri lwa kabaka okutuusa mu mwaka ogwolubereberye ogwa kabaka Kuulo. Mu mwaka gwe ogwokubiri nga kabaka, Nebukadduneeza n'aloota ekirooto, ne kimweraliikiriza nnyo, ne kimubuza n'otulo Awo kabaka n'alagira bayite abasawo n'abafumu n'emmandwa n'Abakaludaaya, bajje bamutegeeze ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka. Kabaka n'abagamba nti, “Nnaloota ekirooto, ne kineraliikiriza era kimbuzizza n'otulo, njagala muntegeeze amakulu gaakyo.” Abakaludaaya ne balyoka baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: buulira abaddu bo ekirooto, nabo banakutegeeza amakulu gaakyo.” Kabaka n'abaddamu nti, “kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto n'amakulu gaakyo, munaatemebwatemebwa, n'amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe. Naye bwe munaantegeeza ekirooto n'amakulu gaakyo, nnaabawa birabo n'empeera n'ekitiibwa ekinene. Kale muntegeeze kye nnaloota n'amakulu gaakyo.” Ne bamuddamu nate nti, “Ayi Kabaka tubuulire ekirooto kyo, naffe tunaakutegeeza amakulu gaakyo.” Kabaka n'addamu nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga mwagala kumala biseera, kubanga mulabye nga kye nsazeewo mmaliridde okukikola. Naye bwe mutantegeeze kirooto, nja kubabonereza mwenna wamu bwe mutambulire kye nnaloota; mwekobaanye okunnimba n'okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, ndyoke ntegeere nga muyinza n'okuntegeeza amakulu gaakyo.” Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Ate era tewabangawo kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, yali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna, newakubadde omufumu yenna, newakubadde Omukaludaaya yenna. Ekyo ky'osaba, ayi kabaka, kizibu nnyo, era tewali ayinza kukitegeeza kabaka, wabula bakatonda abatabeera mu ffe abantu.” Kabaka kyeyava asunguwala nnyo, ne yeekalamula, n'alagira okutta abagezigezi bonna ab'e Babbulooni. Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, ne banoonya Danyeri ne banne nabo okubatta. Awo Danyeri n'atuukirira Aliyooki omukulu wa basserikale ba kabaka, eyajja okutta abagezigezi ab'e Babbulooni, n'ayogera naye n'amagezi n'obwegendereza. N'abuuza Aliyooki omwami wa kabaka nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky'obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n'alyoka ategeeza Danyeri ensonga eyavaako ekigambo ekyo. Danyeri n'agenda ne yeegayirira kabaka amuwe obudde, naye anaamutegeeza amakulu g'ekirooto. Awo Danyeri n'addayo mu nnyumba ye, n'ategeeza banne, Ananiya, Misayeri ne Azaliya, ekigambo ekyo. N'abagamba basabe Katonda owo mu ggulu abakwatirwe ekisa abalage amakulu g'ekyama ekyo, baleme kuzikirizibwa awamu n'abagezigezi abalala ab'e Babbulooni. Mu kiro ekyo ekyama ne kiryoka kibikkulirwa Danyeri mu kwolesebwa. Danyeri n'alyoka yeebaza Katonda owo mu ggulu. Ng'agamba nti, “Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n'emirembe: kubanga amagezi n'amaanyi bibye. Oyo y'akyusa ebiseera n'ebiro, aggyawo era assaawo bakabaka. Awa amagezi abagezigezi, n'okumanyisa abo abategeevu. Abikkula ebigambo eby'ebuziba eby'ekyama. Amanyi ebiri mu kizikiza, era yeetooloddwa ekitangaala. Nkwebaza, nkutendereza, ayi ggwe Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye: kubanga otutegeezezza ekigambo kya kabaka.” Awo Danyeri n'agenda eri Aliyooki, kabaka gwe yali alagidde okuzikiriza abagezigezi ab'e Babbulooni, n'amugamba nti, “Tozikiriza bagezigezi ab'e Babbulooni, ntwala eri kabaka, nange naamutegeeza amakulu g'ekirooto kye.” Amangwago Aliyooki n'ayingiza Danyeri eri kabaka, n'amugamba bw'ati nti, “Nzudde omu ku basajja okuva mu banyage b'omu Yuda, anaakutegeeza amakulu g'ekirooto kyo.” Kabaka n'addamu n'agamba Danyeri, erinnya lye eddala Berutesazza, nti, “Ggwe oyinza okuntegeeza ekirooto kye nnaloota, n'amakulu gaakyo?” Danyeri n'addamu kabaka, nti, “Ekyama ky'owalirizza, abagezigezi okukikutegeeza, tebayinza kukikutegeeza nakatono, wadde abafumu, abasawo n'abalaguzi. Naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, oyo ya kutegeezezza Ayi kabaka Nebukadduneeza, ebiribaawo mu nnaku ez'enkomerero. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwayolesebwa ku kitanda kyo, bye bino: Ai kabaka, bwe wali mu kitanda kyo nga weebase, waloota ebiribaawo oluvannyuma, era Katonda abikkula ebyama akutegeezezza ebiribaawo. Naye nze, ekyama kino kimbikkuliddwa, si lwa kuba ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna abalamu, naye kyekivudde kimbikkulirwa Ayi kabaka, otegeezebwe amakulu g'ekirooto kyo, era naawe otegeere ebirowoozo eby'omu mutima gwo. Ggwe, Ayi kabaka, watunula, n'olaba ekifaananyi ekinene, ekimasamasa era nga kya ntiisa, nga kiyimiridde mu maaso go. Omutwe gwakyo, gwali gwa zaabu omulungi. Ekifuba kyakyo n'emikono gyakyo, byali bya ffeeza. Olubuto lwakyo n'ebisambi byakyo, byali bya kikomo, ate amagulu gaakyo nga ga kyuma. Ebigere byakyo, ekitundu nga kya kyuma, ate n'ekitundu nga kya bbumba. Bwe wali okyakitunuulira, ejjinja eddene ne limogoka lyokka ku lwazi, nga tewali alikutteko, ne likuba ebigere by'ekifaananyi eby'ekyuma n'ebbumba, ne libimenyaamenya. Olwo ekyuma, n'ebbumba, n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo kantu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna. Ekyo kye kyali ekirooto kyo, era kaakano ka tukubuulire, Ayi kabaka, amakulu gaakyo: Ggwe, Ayi kabaka, ggwe kabaka afuga bakabaka bonna. Katonda ow'omu ggulu, gwe yawa obwakabaka, n'obuyinza, n'amaanyi, n'ekitiibwa; yassa mu mikono gyo, abantu bonna gyebali, ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga, okubifuga. Ggwe mutwe ogwa zaabu. Bw'olivaawo waliddawo obwakabaka obulala, obutalyenkana bubwo maanyi. Obwo buliddirirwa obwakabaka obulala obw'okusatu obw'ekikomo, obulifuga ensi zonna. Obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya bintu byonna. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna. Era nga bwe walaba ebigere n'obugere, ng'ekitundu kya bbumba lya mubumbi, n'ekitundu kya kyuma, obwakabaka obwo buliba bwawulemu. Naye bulibaamu ku maanyi g'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba. Era ng'obugere bwe bwali, ng'ekitundu kya kyuma n'ekitundu kya bbumba, n'obwakabaka obwo bwe buliba bwe butyo, ekitundu bwa maanyi, n'ekitundu nga bunafu. Era walaba ekyuma nga kitabuddwa ne ebbumba, n'abafuzi b'obwakabaka obwo, baligezaako okwegattira mu kufumbiriganwa, naye tebalisobola, ng'ekyuma bwe kitasobola kwetabula na bbumba. Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow'eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so tebulifugibwako ggwanga ddala lyonna, naye bulimenyaamenya ne buzikiriza obwakabaka obulala bwonna, ne bubeerawo emirembe gyonna. Walaba ejjinja nga bwe lyamogoka lyokka ku lusozi nga tewali alikutteko, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu akutegeezeza ebiribaawo gye bujja. Ekirooto kya mazima ddala, n'amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.” Awo kabaka Nebukadduneeza n'alyoka avuunama ku ttaka, n'assaamu Danyeri ekitiibwa, n'alagira okuwa Danyeri ssaddaaka n'omugavu. Kabaka n'agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wammwe, ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga osobodde okubikkula ekyama ekyo.” Awo Kabaka n'alyoka afuula Danyeri omukulu, n'amuwa ebirabo bingi ebinene, n'amuwa okufuga essaza lyonna ery'e Babbulooni, era okuba omwami omukulu ow'abagezigezi bonna ab'e Babbulooni. Danyeri n'asaba kabaka, okukuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu bufuzi bw'essaza lye Babbulooni: naye Danyeri n'asigala mu lubiri lwa kabaka. Kabaka Nebukadduneeza yakola ekifaananyi ekya zaabu, obuwanvu bwakyo emikono nkaaga (60), n'obugazi bwakyo emikono mukaaga, n'akiyimiriza mu lusenyi lw'e Dduula, mu ssaza lye Babbulooni. Awo kabaka Nebukadduneeza n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, abalamuzi, abawanika, abawi ba magezi, bannamateeka, n'abakulu bonna abo mu masaza, bajje babeerewo nga ekifaananyi kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza kiwongebwa. Awo abaamasaza, n'abamyuka baabwe, n'abafuga, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi ba magezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna abo mu masaza, ne bakuŋŋaana olw'okuwonga ekifaananyi kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza ne bayimirira mu maaso gaakyo. Awo omulangirizi n'ayogerera waggulu nti, “Mmwe abantu mwenna, amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, mulagirwa nti bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ery'e bivuga ebirala byonna ebya buli ngeri, ne mulyoka muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza. Era buli anaagaana okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo, ajja kusuulibwa mangwago wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro.” Awo abantu bonna, n'abamawanga bonna, n'ab'ennimi zonna, bwe baawulira eddoboozi ly'engombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ery'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza. Awo mu kiseera ekyo, Abakaludaaya abamu ne bajja, ne baloopa Abayudaaya. Ne bagamba kabaka Nebukadduneeza nti, “Ai kabaka, obeerenga omulamu emirembe gyonna. Ggwe, wateeka etteeka, Ayi kabaka, nti buli anaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'erya buli kivuga ekirala kyonna, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu; era buli anaagaana okuvuunama n'okusinza anaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro. Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu kufuga essaza lye Babbulooni: Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Abasajja abo, Ayi kabaka, bakunyooma, tebaweereza bakatonda bo, era tebavuunama kusinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza.” Awo Nebukadduneeza n'alyoka asunguwala ne yeejuumuula n'alagira okuleeta Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka. Nebukadduneeza n'ababuuza nti, “Mmwe Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, ddala kituufu, mugaanyi okuweereza katonda wange, n'okuvuunama okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nnayimiriza? Kale nno kaakano, bwe munakkiriza nga muwulidde eddoboozi ly'engombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'erya buli kivuga ekirala kyonna, ne muvuunama ne musinza ekifaananyi kye nnakola, kinaaba kirungi, naye bwe mutaasinze, mu kiseera ekyo munaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange?” Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ai Nebukadduneeza, tekitugwanira kukuddamu mu kigambo ekyo. Bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, Ayi kabaka. Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, Ayi kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza.” Awo Nebukadduneeza n'alyoka yeejuumuulira ddala, najjula obusungu, n'atunuulira Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego n'obukambwe, n'alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga bwe kyali kyase. N'alagira abamu ku basajja ab'amaanyi abo mu ggye lye, okusiba Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, n'okubasuula mu kikoomi ekyaka n'omuliro. Awo abasajja abo ne basibibwa nga bambadde engoye zaabwe: ekkanzu zaabwe, n'eminagiro gyabwe, ne byo ku mitwe gyabwe, ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro. Awo kubanga kabaka yali alagidde okukumira ddala ekikoomi kyake nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaasuula mu kikoomi Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. N'abasajja abo abasatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne bagwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro, nga basibiddwa. Awo Nebukadduneeza kabaka n'alyoka yeewuunya, n'ayanguwa okusituka, n'abuuza abakungu be nti, “Tetusudde basajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro?” Ne baddamu kabaka nti, “Mazima, bwe kiri, Ayi kabaka.” N'abagamba nti, “Nze nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi! n'owookuna aliŋŋaanga omwana wa bakatonda.” Awo Nebukadduneeza n'alyoka asembera kumpi n'omulyango gw'ekikoomi ekyaka n'omuliro, n'akoowoola nti, “Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, mmwe abaweereza ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume, mujje wano.” Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego ne balyoka bafuluma wakati mu muliro. Abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, n'abawi ba magezi, bonna ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziyidde era nga n'olusu lw'omuliro terubawunyako. Nebukadduneeza n'agamba nti, “Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be abamwesize ne bawaakanya ekigambo kyange nze kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe mu kabi, baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna, okuggyako Katonda waabwe bo. Kale kaakano, kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n'eggwanga, n'olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, balitemebwatemebwa n'ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo” Kabaka n'alyoka akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu ssaza lye Babbulooni. Kabaka Nebukadduneeza n'awandiikira abantu bonna, ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, abali mu nsi zonna nti, Emirembe gyeyongere gye muli. Ndabye nga kirungi okubalaga obubonero n'eby'amagero, Katonda Ali waggulu ennyo, bye yankolera. Obubonero bwe nga bukulu! n'eby'amagero bye nga bya maanyi! obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'okufuga kwe kwa mirembe na mirembe. Nze Nebukadduneeza nali nneewummulidde mu nnyumba yange, era nga mpulira emirembe mu lubiri lwange. Nnendoota ekirooto ekyantiisa. N'ebyo bye nnalowooleza ku kitanda kyange, n'omutwe gwange bye gwayolesebwanga, byanneeraliikiriza. Kyennava ndagira okundeetera abagezigezi bonna ab'e Babbulooni bantegeeze amakulu g'ekirooto. Awo ne bajja gye ndi abasawo, abafumu, n'abalogo, n'abalaguzi, Ne mbalootololera ekirooto kyange, naye ne batayinza kuntegeeza makulu gaakyo. Naye oluvannyuma Danyeri n'ajja gye ndi, erinnya lye eddala ye Berutesazza, ng'erinnya lya katonda wange bwe liri, omwoyo gwa bakatonda abatukuvu gwali mu ye, kale ne mmulootolera ekirooto kyange bwe nti, “Ggwe Berutesazza, omukulu w'abasawo, kubanga mmanyi ng'omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so nga tewali kyama ekikulema, kale mbuulira bye nnayolesebwa mu kirooto kyange, n'amakulu gaakyo. Omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange byali bwe biti: nnatunula, ne ndaba omuti mu makkati g'ensi, nga muwanvu nnyo. Omuti ne gukula, ne guba gwa maanyi, ne guwanvuwa okutuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi. Gwalina ebikoola birungi, nga n'ebibala byagwo bingi, nga bimala okuliisa ensi yonna. Ensolo ez'omu nsiko zeggamanga mu kisiikirize kyagwo, n'ebinnyonyi eby'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo. Era ebiramu byonna ebirina omubiri, ne bigulyangako. Awo mu kiseera ekyo nga ngalamidde ku kitanda kyange, mu kwolesebwa ne ndaba omukuumi era omutukuvu n'akka ng'ava mu ggulu. N'ayogerera waggulu, n'agamba bw'ati nti,‘Temera ddala omuti, ogutemeko amatabi gaagwo, ogukunkumuleko ebikoola byagwo, osaasaanye ebibala byagwo. Goba ensolo zive wansi waagwo, n'ebinnyonyi bive mu matabi gaagwo. Naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. Leka omuntu oyo, omusulo ogw'omu ggulu gumutobye, era muleke agabanire wamu omuddo n'ensolo ez'omu nsiko. omutima gwe guwaanyisibwe, aggyibweko amagezi ag'omuntu, aweebwe omutima gw'ensolo, okumala emyaka musanvu. Omusango ogwo gusaliddwawo ng'ekiragiro eky'abakuumi abatukuvu, abantu bonna balyoke bategeere ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afuga obwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa buli gw'ayagala, era ng'ayinza n'okubuwa oyo asingayo okuba omunafu.’ Ekirooto ekyo nze kabaka Nebukadduneeza kye nnaloota. Kaakano nno, ggwe, Berutesazza, ntegeeza amakulu gaakyo, kubanga abagezigezi bonna ab'omu bwakabaka bwange balemeddwa okuntegeeza makulu gaakyo, naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe.” Awo Danyeri era ye Berutesazza, n'amala akabanga ng'asobeddwa, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza. Kabaka n'amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n'amakulu gaakyo bireme kukweraliikiriza.” Berutesazza n'addamu n'agamba nti, Mukama wange, ekirooto kibe ku abo abakukyawa, n'amakulu gaakyo ku abalabe bo. Omuti gwe walabye ogwameze ne guba gwa maanyi, obuwanvu bwagwo ne butuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi, ebikoola byagwo nga birungi, n'ebibala byagwo nga bingi, ebisobola okuliisa ensi yonna, n'ensolo ez'omu nsiko ne zibeera wansi waagwo, n'ennyonyi ez'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo, ye ggwe, Ayi kabaka, akuze n'oba wa maanyi, ekitiibwa kyo ne kyeyongera ne kituuka mu ggulu, n'obuyinza bwo bubunye mu nsi yonna. Era ggwe kabaka walabye omukuumi era omutukuvu ng'akka ng'ava mu ggulu, n'agamba nti, “Temera ddala omuti, oguzikirize, naye leka ekikonge ky'ekikolo kyagwo mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo gumutobye, era agabane omuddo n'ensolo ez'omu nsiko, okumala emyaka musanvu. Gano ge makulu, Ayi kabaka, era Oyo Ali waggulu ennyo, kino ky'alagidde kikutuukeko, mukama wange kabaka. Oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko; olirya omuddo ng'ente, onosulanga bweru ogwibwengako omusulo, okumala emyaka musanvu, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo y'afuga obwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala. Era nga bwe balagidde okuleka ekikonge ky'ekikolo ky'omuti, obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw'olimala okutegeera ng'Eggulu lye lifuga. Kale, Ayi kabaka, kkiriza amagezi genkuwa: lekerawo okukola ebibi, kola eby'obutuukirivu, era mu kifo ky'okwonoona, saasira abaavu, olwo mpozzi lw'oneeyongera okuba obulungi.” Ebyo byonna byatuuka ku kabaka Nebukadduneeza. Emyezi kkumi n'ebiri bwe gyayitawo, kabaka yali atambulira waggulu ku lubiri lw'e Babbulooni, n'agamba nti, “Kino si ye Babbulooni ekikulu, kye nnazimba n'amaanyi gange, era n'ekitiibwa ky'obukulu bwange, okuba olubiri lw'obwakabaka?” Kabaka yali nga akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti, “obubaka buno bubwo, Ggwe kabaka Nebukadduneeza, obwakabaka bukuggyiddwako.” Era onoogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko. onoolya omuddo ng'ente, okumala emyaka musanvu, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye y'afuga obwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala. Amangwago ebigambo ebyo ne bituukirira ku Nebukadduneeza: n'agobebwa okuva mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, n'omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw'omu ggulu. Enviiri ze ne zikula okwenkana ebyoya by'empungu, n'enjala ze ne ziwanvuwa ng'ez'ebinnyonyi. Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, ne nziramu okutegeera, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n'emirembe, kubanga obufuzi bwe bwa lubeerera, n'obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe. Abantu bonna ab'oku nsi abalowooza nga si kintu, era akola nga bw'ayagala mu ggye er'yomu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi. Tewali ayinza okuziyiza ky'ayagala okukola, wadde okumubuuza nti, “Okola ki?” Mu kiseera ekyo ne nziramu okutegeera, ekitiibwa kyange eky'obwakabaka, n'obukulu bwange, n'ettutumu ne binzirira. Abakungu bange n'abaami bange ne bannoonya, ne bankomyawo ku bwakabaka bwange, n'obukulu bwange ne bweyongerako n'okusinga bwe bwali edda. Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza, mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w'Eggulu: kubanga buli ky'akola ge mazima, na buli ky'asalawo kye kituufu, era atoowaza ab'amalala. Kabaka Berusazza yateekereteekera abaami be lukumi (1,000), embaga makeke, n'anywa nabo omwenge. Awo Berusazza, bwe yali ng'anywa ku mwenge, n'alagira baleete ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu Yeekaalu eyali mu Yerusaalemi ye n'abaami be, n'abakyala be, n'abazaana be, babinyweremu. Awo ne baleeta ebintu ebya ffeeza ebyaggibwa mu Yeekaalu, y'ennyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi, kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, ne babinyweramu. Ne banywa omwenge, ne batendereza bakatonda aba zaabu n'aba ffeeza, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja. Bagenda okulaba ng'engalo z'omukono gw'omuntu ziwandiika ku kisenge ky'olubiri lwa kabaka, okwolekera ekikondo ky'ettaala. Kabaka n'alaba ekitundu ky'omukono nga kiwandiika. Awo entunula ya kabaka ne kyuka, naatya nnyo, n'ennyingo ez'omu kiwato kye ne ziddirira, n'amaviivi ge ne gakubagana. Kabaka n'alagira mu ddoboozi ery'omwanguka baleete abafumu, abalogo, n'abalaguzi. Kabaka n'agamba abagezigezi ab'e Babbulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma okuwandiika okwo, era n'ategeeza amakulu gaakwo, ajja kwambazibwa olugoye olw'effulungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era ajja kuba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.” Awo ne bayingira abagezigezi bonna aba kabaka, naye ne batayinza kusoma kuwandiika okwo, wadde okutegeeza kabaka amakulu gaakwo. Kabaka Berusazza ne yeyongera nnyo okweraliikirira, n'entunula ye n'ekyuka, abaami be ne basoberwa. Awo mukyala wa kabaka, bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n'abaami be, n'ayingira mu kisenge omwali embaga n'agamba nti, “Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna, lekerawo okweraliikirira n'entunula yo ereme okukyuka. Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu, ne mu mirembe gya kitaawo omusana n'okutegeera n'amagezi, ng'amagezi ga bakatonda, byalabikira mu oyo, era kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n'amufuula omukulu w'abasawo, n'abafumu, n'abalogo n'abalaguzi; kubanga omwoyo omulungi ennyo, n'okumanya, n'okutegeera, n'okulootolola ebirooto, n'okutegeeza amakulu, n'okunnyonnyola ebikisiddwa, byalabikira mu Danyeri oyo, kabaka gwe yatuuma Berutesazza. Kale bayite Danyeri, naye anaakutegeeza amakulu.” Awo Danyeri n'alyoka aleetebwa mu maaso ga kabaka. Kabaka n'amubuuza nti, “Ggwe Danyeri oyo, omu ku banyage, kitange be yaggya mu Yuda? Nkuwuliddeko, ng'omwoyo gwa bakatonda guli mu ggwe, era ng'omusana n'okutegeera n'amagezi amalungi ennyo birabikira mu ggwe. Abagezigezi, n'abafumu, baleeteddwa mu maaso gange, basome okuwandiika okwo, era bantegeeze amakulu gaakwo, naye ne batayinza kutegeeza makulu ga bigambo ebyo. Naye ggwe nkuwuliddeko, ng'oyinza okulootolola n'okunnyonnyola ebikisiddwa, kale bw'onooyinza okusoma ebiwandiikiddwa ebyo, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, onooyambazibwa olugoye olw'effulungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, era onooba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.” Awo Danyeri n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti, “Ebirabo byo beera nabyo ggwe, n'empeera yo ogiwe omulala, naye nze nnaakusomera Ayi kabaka ebiwandiikiddwa, ne nkutegeeza n'a makulu gaabyo. Ai kabaka, Katonda ali waggulu ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, n'obukulu. Era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna, amawanga, n'ennimi ne bakankana ne batya mu maaso ge: yattanga gwe yayagalanga okutta, era yasonyiwanga gwe yayagalanga okusonyiwa, yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, era yatoowazanga gwe yayagalanga okutoowaza. Naye omutima gwe bwe gwegulumiza, n'omwoyo gwe ne gukakanyala bw'atyo n'okukola n'akola eby'amalala, n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'aggyibwako ekitiibwa kye; n'agobebwa okuva mu bantu, omutima gwe ne gufuulibwa ng'ogw'ensolo, n'abeera wamu n'entulege n'alyanga omuddo ng'ente, omubiri gwe ne gutoba omusulo ogwo mu ggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda ali waggulu ennyo ye afuga bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa yenna gwaba ayagadde. Naawe omwana we, Ayi Berusazza, tonnatoowaza mutima gwo, newakubadde nga wamanya ebyo byonna: naye weegulumiza eri Mukama w'eggulu, ne baleeta ebintu ebyo mu nnyumba ye mu maaso go, naawe n'abaami bo, abakyala bo n'abazaana bo, ne mubinyweramu omwenge: n'otendereza bakatonda aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, so tebawulira, so tebategeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu mukono gwe, era amanyi engeri zo zonna, tomuwadde kitiibwa. Kale kyeyavudde atuma ekitundu ky'omukono ne kiwandiika ebigambo ebyo. Era ebiwandiikiddwa bye biibino, nti MENE, MENE, TEKEL, UFARSIN. Amakulu g'ebigambo ge gano: MENE: Katonda akendezezza ennaku z'obwakabaka bwo, era abukomezza. TEKEL: opimiddwa ku minzaani, osangiddwa ng'obulako. PERES: obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n'Abaperusi.” Berusazza n'alyoka alagira, ne bayambaza Danyeri olugoye olw'effulungu, omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era n'alangirirwa okuba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka. Mu kiro ekyo, Berusazza kabaka Omukaludaaya n'attibwa. Daliyo Omumeedi n'aweebwa obwakabaka, nga wa emyaka nkaaga mu ebiri (62). Daliyo yalaba nga kirungi okussaawo abafuzi b'amasaza mu bwakabaka bwe; n'alonda abaamasaza kikumi mu abiri (120), nga waggulu waabwe eriyo abakulu basatu, omu ku abo nga ye Danyeri. Abaamasaza abo babanjulirenga musolo, kabaka aleme okufiirwa. Awo Danyeri n'asukkuluma ku bakulu banne ababiri, ne ku b'amasaza kubanga yalina omwoyo omulungi, era kabaka yali alowooza okumuwa okufuga obwakabaka bwonna. Olwawulira ebyo, abakulu abalala ababiri, n'abaamasaza ne bafuba okunoonya ekikyamu mu ngeri Danyeri gye yali alabiriramu obwakabaka, naye ne batakizuula, kubanga yali mwesigwa, nga talina kibi kyonna, wadde akabi konna. Awo abasajja abo ne bagamba nti, “Tetugenda kulaba nsonga eneesinga Danyeri oyo, wabula ng'ekwata ku bigambo eby'amateeka ga Katonda we.” Awo abakulu abo n'abaamasaza ne bajja eri kabaka, ne bamugamba bwe bati nti, “Kabaka Daliyo, obenga omulamu emirembe gyonna. Abakulu abasatu, ab'obwakabaka, n'abamyuka baabwe, abaamasaza, abakungu n'abafuzi abalala bonna, bateesezza ne bassakimu nti Ayi kabaka, oteekewo etteeka n'ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna mu nnaku asatu (30), okuggyako ng'asinza ggwe, asuulibwe mu mpuku omuli empologoma. Kale, Ayi kabaka, lagira ekiragiro ekyo, era oteeke omukono gwo ku biwandiikiddwa ebyo, bireme okukyusibwa, ng'amateeka ag'Abameedi n'Abaperusi bwe gali, agatajjulukuka.” Awo Kabaka Daliyo n'ateeka omukono gwe ku kiwandiiko ky'ekiragiro ekyo. Awo Danyeri bwe yamanya ng'ekiragiro kiteekeddwako omukono, n'addayo mu nnyumba ye, n'ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga gagguddwawo nga goolekedde Yerusaalemi. Nga bwe yakolanga edda, n'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, ne yeebaza Katonda we. Awo abasajja abo ne bassakimu ne bajja ne basanga Danyeri ng'asaba era nga yeegayirira Katonda we. Ne balyoka bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne bagamba nti, “Tewassa mukono ku kiragiro, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku asatu (30), wabula ng'asabye ggwe, Ayi kabaka, alisuulibwa mu mpuku omuli empologoma?” Kabaka n'addamu nti, “Ekigambo ekyo bwe kiri ddala, ng'amateeka g'Abameedi n'Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.” Awo ne bamugamba nti, “Danyeri oyo, omu ku banyage abaava mu Yuda, akunyooma, Ayi kabaka, wadde n'ekiragiro kye wassaako omukono ggwo, naye asaba katonda we emirundi esatu buli lunaku.” Awo kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo, n'anakuwala, n'alumirwa Danyeri, n'ayagala okumuwonya: n'amala olunaku lwonna ng'asala amagezi okumulokola. Awo abasajja abo ne baddayo eri kabaka, ne bamugamba nti, “Tegeera, Ayi kabaka, nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewaabenga kiragiro newakubadde etteeka kabaka ly'amaze okukakasa, eriyinza okukyusibwa.” Kabaka n'alyoka alagira, ne baleeta Danyeri, ne bamusuula mu mpuku omuli empologoma. Kabaka n'agamba Danyeri nti, “Katonda wo oyo gw'oweereza bulijjo, anaakuwonya.” Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'empuku: kabaka n'alissaako akabonero ke ye, era n'akabonero ak'abaami be: ekigambo kyonna kireme okukyusibwa eri Danyeri. Kabaka n'addayo mu lubiri lwe, ekiro ekyo n'atalya mmere, era n'agaana n'okumuleetera ebivuga eby'okumusanyusa: otulo ne tumubula. Awo ku makya nnyo obudde nga busaasaana, kabaka n'agolokoka n'ayanguwa n'agenda ku mpuku omuli empologoma. Awo bwe yasemberera empuku omwali Danyeri, n'akoowoola Danyeri mu ddoboozi ery'ennaku nti, “Ggwe Danyeri, omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo gw'oweerezanga bulijjo, ayinziza okukuwonya empologoma?” Danyeri n'addamu kabaka nti, “Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna. Katonda wange yatumye malayika we, n'aziba emimwa gy'empologoma, nnezitankolako kabi, kubanga mu maaso ge siriiko kye nnasobya, era ne mu maaso go, Ayi kabaka, sirina kabi konna ke nnakola.” Kabaka n'asanyuka nnyo nnyini, n'alagira okuggyamu Danyeri mu mpuku. Awo Danyeri n'aggyibwa mu mpuku, nga tewali kabi konna kamutuuseeko, kubanga yali yeesize Katonda we. Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja abo, abaaloopa Danyeri ne babasuula mu mpuku ey'empologoma, bo, n'abaana baabwe, ne bakazi baabwe: empologoma ne zibavumbagira nga tebannaba na kutuukira ddala wansi mu bunnya bwe mpuku, ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna. Awo kabaka Daliyo n'alyoka awandiikira abantu bonna, amawanga n'ennimi, abatuula mu nsi zonna, nti, “Emirembe gyeyongere okuba mu mmwe, Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange, abantu bonna batyenga, era bassengamu ekitiibwa Katonda wa Danyeri: kubanga Oyo ye Katonda omulamu, era omunywevu emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe tebulizikirizibwa so n'okufuga kwe tekulikoma; awonya era alokola, era akola obubonero n'eby'amagero mu ggulu ne mu nsi: awonyeza Danyeri amaanyi g'empologoma.” Bw'atyo Danyeri oyo n'aba n'omukisa mu mirembe gya Daliyo, ne mu mirembe gya Kuulo Omuperusi. Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Berusazza kabaka w'e Babbulooni, Danyeri n'aloota ekirooto era n'ayolesebwa ng'agalamidde ku kitanda kye: n'awandiika ekirooto kye. Danyeri n'agamba nti, “Mukwolesebwa kwange ekiro, nnalaba, empewo nga zikunta okuva ku njuyi zonna ennya, ne zisikuula ennyanja ennene. N'ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja, buli emu nga tefaanana ginnaayo. Eyasooka yali efaanana ng'empologoma, era ng'erina ebiwaawaatiro eby'empungu; bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byayo ne bigimaanyibwako, n'eyimusibwa okuva ku ttaka, n'eyimirira ku magulu abiri ng'omuntu, n'eweebwa omutima ogw'omuntu. Ate ne wavaayo ensolo endala, eyokubiri, eno yaliŋŋanga ddubu, era yali egalamidde ku luuyi lumu ng'esitusemu katono ku magulu gaayo ag'emabega, nga n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti, ‘Situka, olye ennyama ennyingi.’ Oluvannyuma lw'ebyo nnendaba ensolo endala, nga eringa engo, yalina ebiwaawaatiro ebina eby'ekinnyonyi ku mabega gaayo. Era ensolo eyo yalina emitwe ena: n'eweebwa n'obuyinza okufuga. Oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo ey'okuna, ey'entiisa era ey'obuyinza, era ey'amaanyi amangi ennyo: yalina amannyo manene ag'ekyuma: n'erya n'ebetenta, n'erinnyirira ebyasigalawo. Yali ya njawulo ku nsolo ziri azagisooka: yalina amayembe kkumi (10). Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ate laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne likuuliramu ddala amayembe asatu ku gali agalisookawo. Lyalina amaaso nga ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwegulumiza. Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ez'oku mutwe gwe nga njeru ng'ebyoya by'endiga ebirungi. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga zaayo muliro ogwaka. Omugga gw'omuliro ne gukulukuta nga guva w'ali. Abantu enkumi n'enkumi baali awo okumuweereza, n'emitwalo n'emitwalo nga bayimirira mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kugulwawo, ebitabo ne bibikkulwa. Bwe nali nga nkyatunula, ne mpulira ebigambo eby'okwegulumiza ejjembe bye lyayogera, okutuusa ensolo bwe yattibwa, n'esuulibwa mu muliro, n'ezikirizibwa. Ensolo endala zo zagibwako obuyinza bwazo, kyokka obulamu bwazo ne bwongerwayo ekiseera ekigere. Mu kwolesebwa kwe nnafuna ekiro, nnalaba eyafaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ajja n'ebire eby'omu ggulu, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, nayanjulibwa mu maaso ge. N'aweebwa obuyinza, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu bonna, n'ab'amawanga gonna n'ab'ennimi zonna, bamuweerezenga: okufuga kwe kwa mirembe gyonna okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.” “Nange Danyeri, omwoyo gwange ne gunakuwala n'enneeraliikirira olw'ebyo bye nnayolesebwa. Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde okumpi, ne mmubuuza amakulu g'ebyo byonna. Awo n'antegeeza amakulu gaabyo. Ensolo ezo ennene, ezaali ennya, be bakabaka abana, abaliva mu nsi. Naye abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna. Awo ne njagala okumanya amazima agafa ku nsolo ey'okuna, etaafaanana ziri zonna, ey'entiisa ennene, amannyo gaayo nga ga kyuma, n'enjala zaayo nga za kikomo, era eyalya, n'emenyaamenya, n'erinnyirira ebyasigalawo n'ebigere byayo. Era ne njagala okumanya ku by'amayembe ekkumi (10) agaali ku mutwe gwayo, n'eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu (3), lyalina amaaso, n'akamwa akayogera eby'okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga gali gonna. Awo bwe nnali nga nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n'abatukuvu ba Katonda, ne libawangula, okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala musango, abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu ne baweebwa obwakabaka. Awo nantegeeza nti, Ensolo ey'okuna eriba bwakabaka obw'okuna mu nsi, obutalifaanana ng'obwakabaka bwonna, era obufuga ensi zonna, era bulizisambirira, n'ebuzimenyamenya; ate amayembe ago ekkumi, be bakabaka ekkumi (10) abaliva mu bwa kabaka obwo, naye walisitukawo omulala alibaddirira, aliba wa njawulo, era aliggyawo ba kabaka basatu. Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo ali waggulu ennyo, era aliyigganya abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Era aligezaako okukyusa ennaku enkulu n'amateeka, abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera ne biseera n'ekitundu kye kiseera bwe biriggwaawo. Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n'obuyinza bwe bulimuggyibwako ne busaanyizibwawo ddala. Olwo obwakabaka n'okufuga n'ekitiibwa eky'obwakabaka bwonna ku nsi, biriweebwa abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Obwakabaka bw'Oyo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza era galimugondera. Ebigambo ebyo we bikoma wano. Era nze Danyeri, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ntunula, naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange.” Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwa kabaka Berusazza, nze Danyeri, ne nfuna kwolesebwa okwaddirira kuli okwasooka. Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu, Susani, ekiri mu ssaza Eramu. Nnali nnyimiridde ku mabbali g'omugga Ulaayi. Bwe n'ayimusa amaaso gange, ne ndaba endiga ennume, eyalina amayembe abiri amawanvu, ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Naye erimu ku mayembe ago nga lisingako linnaalyo obuwanvu, ate nga lye lyamera oluvannyuma. Ne ndaba endiga eyo ennume ng'etomera ebugwanjuba, n'obukiikakkono n'obukiikaddyo, mpaawo nsolo eyayinza okugirwanyisa, era mpaawo eyayinza okuwona amaanyi gaayo. N'ekola nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza. Awo bwe nnali nkyafumiitiriza ku ekyo, amangwago embuzi ennume, eyalina ejjembe eritutunuseeyo wakati w'amaaso gaayo, n'esala okuva ku luuyi olumu olw'ensi okulaga ku lulala nga terinyeko ku ttaka. N'erumba n'obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Ne ngiraba ng'esemberera endiga ennume, mu busungu obungi n'egitomera era n'emenya amayembe gaayo abiri; n'endiga ennume teyalina maanyi kwetaasa, naye embuzi n'egimegga wansi, n'egirinnyirira, ne wataba ayinza kutaasa ndiga eyo. Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, ne mu kifo kyalyo ne wamerawo amayembe ana agatutunuseeyo, nga gatunuulira enjuyi ennya ez'ensi. Ne mu limu mu ago ne muva ejjembe ettono, eryafuuka ery'amaanyi ennyo, ne likakaatika obuyinza bwalyo obukiikaddyo, n'ebuvanjuba, ne ku Nsi ey'Ekitiibwa. Ne lyeyongera amaanyi, ne lituuka n'okulumba eggye ery'omu ggulu. N'ebyo mu ggye eryo ebimu n'emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libirinnyirira, ne lyegulumiza okwenkanankana n'Omukulu w'eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne lyonoona n'Ekifo Ekitukuvu. Olw'obujeemu eggye awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne lituukiriza buli kye lyayagala okukola. Awo ne mpulira omutukuvu omu ng'ayogera, n'omutukuvu omulala n'agamba oyo eyali ayogedde, nti, “byo ebyoleseddwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, biribaawo kutuusa ddi? Okwonoona okungi, kulibeerawo kutuusa ddi? Okuwaayo awatukuvu era n'eggye biririnnyirirwa kutuusa ddi?” N'amuddamu nti, “Birimala akawungeezi n'enkya, enkumi bbiri mu bisatu (2,300), awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.” Awo, nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne njagala ntegeere amakulu gaabyo. Mba nkyali awo, ngenda okulaba nga wayimiridde mu maaso gange ekyandabikira ng'omuntu. Ne mpulira eddoboozi ly'omuntu nga liva wakati w'omugga Ulaayi, nga likoowoola nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g'ebyo byayoleseddwa.” Awo n'asembera we nnali nnyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne ngwa wansi nga nneevuunise, naye n'aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w'omuntu, ebikwoleseddwa bya kiseera kya nkomerero.” Awo, bwe yali ayogera nange, ne nkwatibwa otulo tungi, ne ngwa nga nneevuunise, ye n'ankwatako n'angolokosa. N'agamba nti, “Kale nnaakutegeeza ebiribaawo mu kiseera eky'enkomerero ng'obusungu bwa Katonda bugenda okuggwaako. Ebyo ebyakwolesebwa bya kiseera kya nkomerero ekyateekebwawo. Endiga ennume gy'olabye ebadde n'amayembe abiri, bwe bwakabaka bwa b'Abameedi n'Abaperusi. N'embuzi ennume ey'ekikuzzi bwe bwakabaka bwa Buyonaani; ejjembe eddene eriri wakati w'amaaso gaayo ye kabaka ow'olubereberye. N'eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne musibukamu ana, bwe bwakabaka buna obuliva mu ggwanga eryo, naye bwo tebuliba n'amaanyi nga bwo. Enkomerero y'obwakabaka obwo obuna bw'eriba eneetera okutuuka, era nga n'abantu bayitirizza okwonoona, walisibukawo kabaka atunuza obukambwe era omukujjukujju mu byonna byakola. Aliba n'obuyinza bungi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta okuzikiriza okw'entiisa, alituukiriza by'ayagala okukola, era alizikiriza ab'amaanyi, n'abantu abatukuvu. Era olw'obukujjukujju bwe, aliba mulimba okusobola okukola by'ayagala. Alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nti bali mirembe. Era alisituka okulwanyisa n'Omukulu w'abalangira, naye alizikirizibwa si n'amaanyi g'abantu. Okwolesebwa kwewafuna ku kawungeezi n'enkya, kwa mazima. Naye ggwe ebikwoleseddwa bikuume nga bya kyama, kubanga bya nnaku eziri ewala.” Nange Danyeri ne nzigwamu amaanyi, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi, n'oluvannyuma ne nva ku ndiri, ne nzira ku mirimu gya kabaka. Kyokka ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye ne sibitegeera. Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Daliyo, omumeedi, mutabani wa Akaswero, gwe yaliiramu obwakabaka bw'Abakaludaaya: mu mwaka ogwolubereberye ogw'okufuga kwe, nze Danyeri nali nkebera mu bitabo, ne nzuula nti Yerusaalemi kirimala emyaka nsanvu (70) nga kizise, nga ekigambo kya Mukama bwe kyajjira nnabbi Yeremiya. Awo ne nkyukira Mukama Katonda, okumunoonya nga nsaba, nga mwegayirira, wamu n'okusiiba nga nnyambadde ebibukutu era nga ntudde mu vvu. Ne nsaba Mukama Katonda wange, ne njatula nti, “Ai Mukama, Katonda omukulu era ow'entiisa, akuuma endagaano gy'oba okoze, era n'osaasira abo abakwagala era abakwata amateeka go. Twasobya ne twonoona, ne tukola ebibi. Twajeema ne tuva ku mateeka go ne ku biragiro byo. Tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, n'eri eggwanga lyonna. Ai Mukama, Ggwe oli mutuukirivu, naye ffe bulijjo twereetera okuswala, nga kwe tulimu kaakano. Ekyo bwe kiri eri ffenna: abantu ab'omu Yuda, n'abatuula mu Yerusaalemi, ne Isiraeri yenna, abali okumpi, n'abo abali ewala, mu nsi zonna gye wabagobera, olw'okwonoona kwe baayonoona ggwe, Ai Mukama, ffe ne bakabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, tuswadde kubanga twakwonoona ggwe. Mukama Katonda waffe ye alina okusaasira n'okusonyiwa: kubanga twamujeemera: so tetwawulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, okutambulira mu mateeka ge, ge yatuwa nga agayisa mu baddu be bannabbi. Weewaawo, Isiraeri yenna yamenya amateeka go, naakuvaako, n'agaana okuwulira eddoboozi lyo. Kyewava otuteekako ebikolimo bye walayira okututuusaako, ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wo: kubanga twakwonoona. N'onyweza ebigambo byo, bye wayogera ku ffe, era ne ku balamuzi baffe abaatulamulanga, bwe watuleetako obubi obunene: kubanga kye wakola Yerusaalemi wali tokikolangako walala wonna wansi w'eggulu. Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe butyo obubi obwo bwonna bwatujjako: era naye tetunnasaba kisa kya Mukama Katonda waffe, okuleka ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, olwo tubeere n'amagezi okumanya amazima go. Mukama kyewava otunuulira obubi, n'otubonereza: kubanga Mukama Katonda waffe oli mutuukirivu mu bikolwa byo byonna by'okola, naffe tetwawulira ddoboozi lyo. Ne kaakano, Ayi Mukama Katonda waffe, ggwe eyaggya abantu bo mu nsi y'e Misiri n'omukono ogw'amaanyi, ne weefunira ekitiibwa, ekikyaliwo ne kaakano: twayonoona, twakola bubi. Ai Mukama, ng'obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n'obukambwe bireme kweyongera kubeera ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu: kubanga olw'okwonoona kwaffe n'olw'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, Yerusaalemi n'abantu bo bafuuse ekivume eri abo bonna abatwetooloola. Kale kaakano, Ayi Katonda waffe, wulira okusaba kw'omuddu wo, n'okwegayirira kwe, era, ku lwo kusaasira kwo, Ayi Mukama, tunuulira awatukuvu wo awazise. Ai Katonda wange, tega okutu kwo, owulire: ozibule amaaso go, olabe ebyaffe ebyazika, n'ekibuga ekituumibwa erinnya lyo: kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw'obutuukirivu bwaffe, naye kubanga ggwe okusaasira kwo kungi. Ayi Mukama, wulira: Ayi Mukama, sonyiwa: ayi Mukama, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ayi Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n'abantu bo batuumibwa erinnya lyo.” Awo bwe nnali nga njogera, era nga nsaba, era nga njatula ebibi byange, n'ebibi by'abantu bange Isiraeri, era nga neegayirira Mukama, Katonda wange olw'olusozi olutukuvu olwa Katonda wange: awo bwe nali nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri gwe nnalaba mu ebyo bye nnayolesebwa olubereberye, n'abuusibwa mangu, n'antuukako, mu kiseera eky'okuweerayo ssaddaaka ey'akawungeezi. N'ayogera nange, n'agamba nti, “Ggwe Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n'okutegeera. Bwe wasooka okwegayirira, ekiragiro ne kifuluma, nange nzize okukubuulira: kubanga oli mwagalwa nnyo: kale ssaayo omwoyo nga nkunnyonnyola, otegeere bye wayolesebwa. Ssabbiiti ensanvu (70) ze ziweereddwa abantu bo n'ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n'okumalawo okusobya, n'okuteekawo obwenkanya obw'olubeerera. n'okuyingiza obutuukirivu obutaliggwaawo, n'okussa akabonero ku ebyo ebyayolesebwa ne ku ebyo ebyalangibwa, n'okufuka amafuta ku oyo asinga obutukuvu. Kale manya otegeerere ddala nga kasookedde ekiragiro kifuluma okuzzaawo n'okuzimba Yerusaalemi obuggya, okutuuka ku kujja kw'oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo Ssabbiiti musanvu: era walibaawo Ssabbiiti nkaaga mu bbiri (62), ne kizimbibwa nate, n'enguudo zaakyo era n'ebigo byakyo ebigumu, naye ebyo birikolebwa mu kiseera eky'okubonaabona. Era Ssabbiiti nkaaga mu bbiri (62) bwe ziriggwaako, oyo eyafukibwako amafuta n'alyoka azikirizibwa, so taliba na kintu: n'abantu ab'omulangira alijja balizikiriza ekibuga n'awatukuvu. Enkomerero ye erijja ng'amataba, n'okutuusa enkomerero walibaawo entalo: okuzikiriza kwalagirwa. Omulangira alikola endagaano ennywevu n'abantu bangi okumala Ssabbiiti emu: mu makkati ga Ssabbiiti aliwera ssaddaaka n'ebiweebwayo. Ne ku ntikko y'Ekifo Ekitukuvu, alissaako eby'emizizo, okutuusa enkomerero eyamutegekerwa lw'erimutuukako.” Mu mwaka ogwokusatu ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi ekigambo ne kibikkulirwa Danyeri, eyatuumibwa erinnya Berutesazza. Ekigambo kyali kya mazima, nga kifa ku ntalo ez'amaanyi: n'ategeera ekigambo, n'ategeera bye yayolesebwa. Mu nnaku ezo, nze Danyeri nnamala Ssabbiiti ssatu ennamba nga nkungubaga. Saalyanga ku mmere ennungi, wadde ku nnyama. Ssaanywako ku mwenge, so saasaabanga mafuta okumalira ddala Ssabbiiti ssatu ennamba. Ku lunaku olw'abiri mu ennya olw'omwezi ogwolubereberye, bwe nnali ku mabbali g'omugga omunene, Kiddekeri, ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba omusajja ayambadde olugoye olweru, nga yeesibye mu kiwato olukoba olwa zaabu omulungi ennyo. Omubiri gwe gwali gutemagana ng'ejjinja berulo, n'obwenyi bwe bwali ng'okumyansa kw'eggulu, n'amaaso ge nga galinga ettaala z'omuliro, emikono gye n'amagulu ge, byali ng'ekikomo ekizigule. Nga bw'ayogera, eddoboozi lye nga liri nga ery'ekibiina ekinene. Nange Danyeri, nze nzekka nnalaba bye nnayolesebwa: kubanga abantu abaali nange tebaalaba bye nnayolesebwa: naye okukankana okunene ne kubagwako, ne badduka okwekweka. Ne nsigalawo bw'omu, ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye nnayolesebwa, mu nze ne mutasigala maanyi n'akatono. Embeera yange yonna n'ekyukira ddala, amaanyi neganzigweramu ddala. Naye n'awulira ebigambo bye yali ayogera: bwe nnawulira ebigambo bye, ne ngalamira ku ttaka nga nneevuunise, nnenkwatibwa otulo otungi ennyo. Awo omukono ne gunkwatako, nzenna nga nkankana, ne gunfukamiza wansi, nga nsimbye ebibatu byange ku ttaka. N'aŋŋamba nti, “Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, ssaayo omwoyo ku bigambo bye nkugamba, situka oyimirire. Ntumiddwa gy'oli.” Bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nnyimirira nga nkankana. N'alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri: kubanga okuva ku lunaku lwe wasookerako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, n'okwewombeeka mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa: nange nzize olw'ebigambo byo. Naye omulangira ow'obwakabaka obw'e Buperusi n'anziyiza okumala ennaku abiri mu lumu (21) naye, Mikayiri, omu ku balangira abakulu, n'ajja okunnyamba. Ne mmulekayo ng'ali wamu ne bakabaka ab'e Buperusi. Kaakano nzize okukutegeeza ebiriba ku bantu bo mu nnaku ez'enkomerero: kubanga bye wayolesebwa bya nnaku ezikyali mu maaso.” Era bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne ntunula ku ttaka, ne nsirika. Awo eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma ku mimwa gyange, ne ndyoka njogera. Ne ŋŋamba oyo eyali annyimiridde mu maaso nti, “Ayi mukama wange, ebyo bye nnayolesebwa bindetedde okunakuwala kungi. Sikyalinamu maanyi nakatono. Kale nze omuddu wo, nnyinza atya okwogera naawe mukama wange? Sikyalimu maanyi nakatono, n'omukka gwe nzisa, gumpweddemu.” Eyali afaanana ng'omuntu n'addamu nankomako, n'anzizaamu amaanyi. N'agamba nti, “Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya, Emirembe gibe naawe. Ddamu amaanyi, guma.” Awo bwe yayogera nange bwatyo, ne nziramu nate amaanyi, ne njogera nti, “Mukama wange, yogera, kubanga onzizizzaamu amaanyi.” N'alyoka ayogera nti, “Omanyi kyenvudde njija gy'oli? Kaakano nzirayo okulwana n'omulangira ow'e Buperusi. Bwe nnaavaayo, olwo nga omulangira ow'e Buyonaani ajja. Naye nnaakubuulira ebyawandiikibwa mu byawandiikibwa eby'amazima. Tewali mulala ali nange okubalwanyisa, wabula Mikaeri, omulangira wammwe.” Nange, mu mwaka ogwolubereberye ogwa Daliyo Omumeedi, n'ayimirira okumunyweza n'okumuzzaamu amaanyi. “Era kaakano nnaakutegeeza amazima. Walisitukawo bakabaka abalala basatu mu Buperusi, naye ow'okuna alibaddirira, alibasinga bonna obugagga: bw'alimala okufuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n'obwakabaka obw'e Buyonaani, Awo walisitukawo kabaka ow'amaanyi alifuga n'obuyinza obungi, era alikola nga bw'ayagala. Kyokka bw'alimala okwenyweza mu buyinza, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu ebitundu bina; naye tebuligabirwa zzadde lye, era tebulifugibwa n'obuyinza ye nga bwe yalina: kubanga obwakabaka bwe bulisalwasalwamu ne butwalibwa abalala abatali ba zzadde lye. Ne kabaka w'obukiikaddyo aliba wa maanyi, era omu ku balangira be alifuuka wa maanyi okumusinga, alifuga obwakabaka obulisinga obubwe. Nga wayiseewo emyaka, balyegatta wamu: omuwala wa kabaka w'obukiikaddyo alifumbirwa kabaka w'obukiikakkono okusobola okunyweza enkolagana yaabwe. Kyokka obufumbo bwabwe tebuliwangaala. Omumbejja oyo alittibwa awamu n'abaweereza be bonna abaliba bagenze naye, ne bba, era ne mutabani waabwe. Naye omu ku b'oluganda b'omumbejja oyo, alifuuka kabaka. Alirumba eggye lya kabaka w'obukiikakkono n'aliwangula, era ne bakatonda baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, alibinyaga n'addayo nabyo e Misiri. Era alimala emyaka nga tazzeemu kulumba kabaka w'obukiikakkono. Nga wayiseewo emyaka, kabaka w'obukiikakkono alirumba amatwale ga kabaka w'obukiikaddyo, naye aliwalirizibwa okuddayo mu nsi ye. Batabani be balirwana, balikuŋŋaanya eggye eddene, eririyitirira, eriryanjaala, ne likuba abalabe ne libayitamu, ne lituukira ddala ku kigo kyabwe ekigumu. Awo kabaka w'obukiikaddyo alisunguwala nnyo, alivaayo okulwanyisa kabaka w'obukiikakkono. Aliwangula eggye lya kabaka oyo eririba eddene ennyo. Alyegulumiza olw'obuwanguzi, era alitta abantu bangi nnyo, wabula obuwanguzi bwe tebulirwawo. Kabaka w'obukiikakkono alikuŋŋaanya eggye ddene erisinga lye yalina olubereberye: ekiseera kirituuka nga wayiseewo emyaka, alikomawo n'eggye lye eddene n'eby'okulwanyisa bingi. Ne mu biro ebyo walibaawo bangi abalisituka okulwana ne kabaka w'obukiikaddyo. Era abantu abamu ab'ettima ab'omu ggwanga lyo, balijeema okutuukiriza ebyo byewayolesebwa, naye baliremwa. Awo kabaka w'obukiikakkono alijja, n'azingiza ekibuga ekiriko ebigo ebigumu n'akiwamba. Amaggye g'ebukiikaddyo tegalisobola kumulwanyisa, newakubadde abasserikale be abazira tebaliba n'amaanyi kumulwanyisa. Kabaka oyo alumbye, alikola nga bw'ayagala, tewaliba ayinza kumuziyiza. Era aliyimirira mu nsi ey'ekitiibwa, eribeera mu buyinza bwe, ng'ayinza n'okugizikiriza. Kabaka w'ebukiikakkono, alitegeka okukozesa amaanyi gonna ag'obwakabaka bwe okujja okumulumba. Era alikola nga bwalyagala: era aliwa kabaka w'ebukiikaddyo omwana ow'obuwala okumuwasa. Naye n'ekyo tekirimuyamba n'akatono. Oluvannyuma lw'ebyo alikyuka n'alumba ebizinga, era aliwangula bingi: kyokka omuduumizi w'eggye eririva awalala alikomya ejjoogo lye, era alimukolera ddala nga naye bweyakola abalala. Kabaka oyo alikyuka n'addayo mu bigo ebigumu eby'omu nsi ye, era aliwangulwa n'ataddayo kulabikako nate. Alisikirwa kabaka omulala, aliteekawo omusolooza w'omusolo mu bwakabaka bwe. Naye mu bbanga ttono alizikirizibwa, awatali luyombo wadde olutalo. Ne mu kifo kye muliddamu omuntu anyoomebwa, gwe batawanga kitiibwa kya bwakabaka: naye alijja mu biro eby'emirembe, era aliweebwa obwakabaka olw'okwegonza. Era abo ne kabona omukulu akulira endagaano ya Mukama, balizikirizibwa. Alirimbalimba ab'amawanga amalala ng'akola nabo endagaano, n'afuuka wa maanyi, newakubadde nga alina abantu batono. Alirumba ebitundu ebisinga obugagga nga tebitegedde, era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabira abawagizi be omunyago ogw'abantu n'ogw'ebintu gw'anyaze mu lutalo. Alikola entegeka okulumba ebigo ebigumu, naye ekyo kirimala akaseera katono. Alimalirira n'obuvumu, okulwanyisa kabaka w'obukiikaddyo nga alina eggye ddene. Ne kabaka w'obukiikaddyo, alitegeka eggye eddene okulwana olutalo, kyokka taliwangula, kubanga balimusalira olukwe. Abo abaalya ku mmere ye, be balimuzikiriza. Abasserikale be bangi balittibwa, n'eggye lye lirisasaana. Ne bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba gya kukola bubi, era balirimbagana nga batudde ku mmeeza emu. Naye bye balowooza tebirituukirira, kubanga ekiseera ekyateekebwawo okuba eky'enkomerero kiriba tekinnatuuka. Kabaka w'ebukiikakkono, aliddayo mu nsi ye n'obugagga obungi. N'omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by'alyagala, n'alyoka addayo mu nsi ye. Mu kiseera ekyategekebwa aliddayo, alirumba ensi y'ebukiikaddyo, naye ku mulundi guno tekiriba nga bwe kyali mu kusooka, Kubanga ebyombo eby'e Kittimu birijja okumulumba n'atya, aliddayo, alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by'alyagala, aliddirayo ddala, alirowooza abo abaleka endagaano entukuvu. Aliweereza abasserikale okwonoona awatukuvu, n'e kigo. Baliggyawo okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne bateekawo eky'omuzizo ekizikiriza. Alikozesa ebigambo ebisendasenda, okukyamiza ddala abo abaleka endagaano. Naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n'amaanyi, baliguma ne beerwanako. N'abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi, newakubadde nga baliba battibwa mu ntalo, oba mu kwokebwa omuliro, n'abalala nga banyagibwa ne basibibwa okumala ekiseera. Awo bwe baligwa, balifuna n'okubeerwa okutono, naye bangi abalibeggattako baliba ba nkwe. Abamu ku abo abalina amagezi balittibwa, naye ekirivaamu, abantu balirongoosebwa, n'okutukuzibwa, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero, Katonda kye yategeka, lwe kirituuka. Kabaka ow'ebukiikakkono, alikola nga bw'ayagala, era alyegulumiza, alyekulumbaza nti asinga ba katonda bonna. Alyogera eby'ekitalo ebinyooma Katonda wa bakatonda, era aliraba omukisa okutuusa ekiseera eky'okubonerezebwa kwe lwe kirituuka, kubanga ekyo Katonda kye yategeka kijja kutuukirira. Kabaka oyo talirowooza ku bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza ku katonda yenna: kubanga alirowooza nti ye y'abasinga bonna. Naye mu kifo ky'okuwa bakatonda abo ekitiibwa, alikiwa katonda w'ebigo, bajjajjaabe gwe bataamanya. Alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo omungi, n'ebintu ebirala ebisanyusa. Era alizimba ebigo ebigumu nga ayambibwa katonda we oyo omugenyi. Buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa, era alibawa okufuga abantu bangi, era aligabanya ensi okugibaguza. Mu kiseera eky'enkomerero kabaka w'obukiikaddyo alimusindika, ne kabaka w'obukiikakkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng'alina amagaali, n'abeebagala embalaasi, n'ebyombo ebingi. Era alirumba ensi nnyingi, alyanjaala mu zo, n'aziyitamu ng'amazzi ag'omujjuzo, n'agenda. Era alirumba ne nsi ey'ekitiibwa, n'ensi endala ziriwangulwa. Naye zino zo ziriwonyezebwa mu mukono gwe: Edomu, ne Mowaabu, n'ekitundu ekisinga obunene ekya Amoni. Bw'alirumba ensi ezo zonna, n'ensi y'e Misiri teriwona. Aliba n'obuyinza ku zaabu ne ffeeza, omutereke, ne ku bintu byonna eby'omuwendo omungi eby'omu Misiri. Abalibya n'Abaesiyopya balimugoberera. Naye amawulire agaliva ebuvanjuba ne mu bukiikakkono galimutiisa, era alivaayo n'obusungu bungi okuzikiririza ddala abantu bangi. Era alisimba eweema z'olubiri lwe wakati w'ennyanja n'olusozi olw'ekitiibwa olutukuvu, kyokka alituuka ku nkomerero ye, era tewaliba amuyamba.” “Era mu kiseera ekyo Mikayiri, omulangira omukulu, omukuumi w'abantu abo alirabika. Walibaawo ekiseera eky'okubonaabona okutabangawo okuva amawanga lwe gaabaawo. Mu kiseera ekyo buli muntu aliba nga yawandiikibwa mu kitabo, aliwonyezebwa. Era bangi ku abo abaafa balizuukira, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okw'olubeerera. N'abo abalina amagezi balyakaayakana ng'okumasamasa okw'omu bbanga: n'abo abaakyusa abangi eri obutuukirivu ng'emmunyeenye emirembe n'emirembe. Naye ggwe, Danyeri, kuuma ebigambo bino nga bya kyama, ssa akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero. Bangi balidduuka nga badda eno n'eri, n'okumanya kulyeyongera.” Awo nze Danyeri, ne ndyoka ntunula, ne ndaba abantu abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri. N'omu ku bo n'abuuza omusajja eyali ayambadde olugoye lwa bafuta, nga ayimiridde waggulu w'amazzi g'omugga, nti, “Eby'ekitalo ebyo birimala bbanga ki nga tebinnaggwaawo?” Ne mpulira omusajja oyo eyali ayambadde bafuta, nga ayimiridde waggulu ku mazzi g'omugga, ng'agolola waggulu emikono gye gyombi, eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna. Ne mpulira ng'agamba nti, ekiseera n'ebiseera n'ekitundu kye kiseera. Bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo. Ne mpulira by'ayogedde, naye ne sibitegeera, ne ndyoka mubuuza nti, “Ayi Mukama wange, kiki ekiriva mu ebyo byonna?” N'addamu nti, “Kwata amakubo go Danyeri ogende, kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero. Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abalitukuzibwa; naye ababi balyeyongera okukola ebibi, era ku bo tekuliba ategeera. Naye abo abalina amagezi balitegeera. Era okuva ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku lwe kiriggyibwawo, ne wateekebwawo eky'omuzizo ekizikiriza, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda (1,290). Alina omukisa alindirira n'atuuka ku nnaku olukumi mu ebisatu mu asatu mu ettaano (1,335). Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo. Ojja kufa, naye olifuna omugabo gwo, mu kiseera eky'oluvannyuma.” Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Koseya mutabani wa Beeri mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri. Mukama bwe yatandika okwogera ng'ayita mu Koseya, Mukama yagamba Koseya nti, “Genda owase omukazi ow'obwenzi, ozaale n'abaana ab'obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obususse, ng'eva ku Mukama.” Awo Koseya n'agenda n'awasa omukazi ayitibwa Gomeri muwala wa Dibulayimu; Gomeri n'aba olubuto n'amuzaalira omwana wa bulenzi. Mukama n'agamba Koseya nti, “ Mutuume erinnya lye Yezuleeri; kubanga ekyasigaddeyo ekiseera kitono mbonereze ab'ennyumba ya Yeeku, olw'omusaayi gw'abantu, Yeeku be yattira e Yezuleeri. Era ndikomya obwakabaka obw'ennyumba ya Isiraeri. Awo olulituuka ku lunaku olwo ndimenya omutego gwa Isiraeri mu kiwonvu kya Yezuleeri.” Awo Gomeri n'aba olubuto olwokubiri n'azaala omwana wa buwala. Awo Mukama n'amugamba nti, “Mutuume erinnya lye Lolukama; kubanga sikyakwatirwa kisa nnyumba ya Isiraeri, wadde okubasonyiwa n'akatono. Naye ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Yuda, era nze Mukama Katonda waabwe, ndibalokola ne mbawonnya; so siribalokola na mutego, newakubadde ekitala, newakubadde olutalo, newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde.” Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'agamba Koseya nti, “ Mutuume erinnya Lowami; kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siri Katonda wammwe.” Era naye omuwendo gw'abaana ba Isiraeri guliba ng'omusenyu ogw'ennyanja ogutayinzika kupimibwa newakubadde okubalibwa; kale olulituuka mu kifo, Katonda mwe yabaagambira nti, “Mmwe temuli bantu bange,” awo walibagambira nti, “Mmwe muli baana ba Katonda omulamu.” Awo abaana ba Yuda n'abaana ba Isiraeri balikuŋŋaanyizibwa, era balyerondera omukulembeze omu, era balitambula okuva mu nsi yaabwe, kubanga olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu. Mugambe baganda bammwe nti, “Ami,” era mugambe bannyinammwe nti, “Lukama.” “Mwegayirire nnyammwe, mwegayirire, kubanga si mukazi wange, so nange siri bba, nti aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n'obukaba bwe okuva wakati w'amabeere ge; nneme okumwambula, ne muleka bwereere nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalirwako, ne mmufuula ng'ensi enkalu ey'eddungu, ne mmussa ennyonta; weewaawo, n'abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi. Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi; eyabazaala yawemuka, bwe yayogera nti,‘Ndigenda ne baganzi bange abampa emmere, n'amazzi, ebyoya by'endiga n'obugoogwa, amafuta n'eby'okunywa.’ Kale, laba, ndiziba ekkubo lye n'amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba w'ayita. Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n'alyoka ayogera nti, ‘Nja kuddayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo n'abeeranga bulungi okusinga kaakano.’ Kubanga teyamanya nga nze n'amuwanga eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye yawangayo mu kusinza Baali. Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne mmuggyako ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze. Ndimwambula n'asigala bwereere mu maaso ga baganzi be, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange. Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne Ssabbiiti ze, n'okukuŋŋaana kwe okutukuvu kwonna. Era ndizisa emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti, Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde, era ndigifuula ekibira, n'ensolo ez'omu nsiko zirigirya. Era ndimubonereza olw'ennaku z'embaga za Baali, ze yayotererezangamu obubaane; ne yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be,” bw'ayogera Mukama. “Kale, laba, ndimusendasenda, ne mmutwala mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa. Era nga tuli eyo, ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu, era ndifuula ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu nga mu nnaku ez'omubuto bwe, era nga mu nnaku ze yaviiramu e Misiri. Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama, olimpita Isi; so tokyampita Baali. Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa mannya gaabwe nakatono. Awo ku lunaku olwo ndiragaana endagaano n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga n'ebintu ebyewalula ku ttaka, biremenga kukola kabi bantu bange. Era ndiggyawo omutego, n'ekitala n'entalo okuva mu nsi, era ndibaleka ne mugalamira mirembe. Era ndikwogereza obe wange ennaku zonna; weewaawo, ndikweyogerereza mu butuukirivu ne mu mazima, ne mu ku kusaasira. Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama. “Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, ndiddamu eggulu era nalyo liriddamu ensi; era ensi eriddamu eŋŋaano, omwenge, n'amafuta; era nabyo biriddamu Yezuleeri. Era ndimwesigira mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti, ‘Mmwe muli bantu bange,’ nabo balyogera nti,‘ Ggwe oli Katonda wange.’ ” Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe omulala, era nga mwenzi, nga Mukama bw'ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obukoleddwa mu zabbibu enkalu.” Awo ne mmwegulira ne mmuwasa ne Sekeri za ffeeza kkumi na taano ne komeri eya sayiri, ne ngattako ne kitundu ekya komeri eya sayiri, ne mmugamba nti, “Oteekwa okubeera awo ng'oli wange okumala ekiseera ekiwanvu; tolyefuula mwenzi, so toliba muka musajja mulala yenna, nange bwe ndiba bwe ntyo gy'oli.” Kubanga abaana ba Isiraeri balimala ekiseera kiwanvu nga tebalina kabaka so nga tebalina mulangira, wadde omukulembeze, era nga tebalina ssaddaaka, newakubadde empagi, era nga tebalina kizibawo kya kabona newakubadde baterafi, oluvannyuma abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe; era balijja mu kutya eri Mukama n'eri obulungi bwe mu nnaku ez'oluvannyuma. “Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri,” kubanga Mukama alina empaka n'abantu abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde ekisa, era tewali kumanya Katonda mu nsi. Ekiriwo kwe kulayira, okulimba, okutta, okubba n'okwenda; bamenya buli ebibasiba, era obutemu buddirira obutemu. Ensi kyeriva ekungubaga, na buli muntu agituulamu aliyongobera, ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga; weewaawo, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja bijjiddwawo. Waleme okubaawo okuwakana era waleme kubaawo anenya, kubanga okuwakana kwange kuli naawe Ggwe kabona. Olyesitala emisana, era nnabbi alyesittalira wamu naawe ekiro, era ndizikiriza nnyoko. Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya; kubanga ogaanyi okumanya, nange ndikugaana ggwe, oleme okubeera kabona wange, kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo. “Bakabona gye bakoma okweyongera obungi, gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange; ndikyusa ekitiibwa kyabwe ne nkifuula ensonyi. Ekibi ky'abantu bange, kiri nga emmere gyebali, ne beegomba obutali butuukirivu bwabwe. Ng'abantu bwe bali, ne bakabona bwe batyo bwe bali: era ndibabonereza olw'empisa zaabwe, era ndibasasula olw'ebikolwa byabwe. Balirya naye tebalikkuta; balyenda so tebalyala, kubanga banvuddeko nze Mukama, ne basinza ba katonda abalala.” Omwenge omusu n'omukulu bimalawo okutegeera. Abantu bange beebuuza ku bintu eby'emiti, era n'omuggo gwabwe bibabuulire ebya Katonda, kubanga omwoyo ogw'obwenzi gubakyamizza, era balese Katonda waabwe ne bagenda mu bwenzi. Basalira ssaddaaka ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emiti: Emivule, Emiribine n'Emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: abawala bammwe kyebaava beefuula abenzi, era n'abagole bammwe benda. Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde abagole bammwe bwe bakabawala; kubanga abasajja bennyini mudda wabbali n'abakazi abenzi ne muweerayo ssaddaaka n'abenzi b'omu biggwa, era abantu abatalina kutegeera balizikirira. Newakubadde nga weefuula omwenzi, Ggwe, Isiraeri, leka Yuda aleme kusingibwa musango. Temuyingiranga mu Girugaali, wadde okugenda e Besaveni, so temulayiranga nti, “ Nga Mukama bw'ali omulamu.” Ng'enduusi endalulalu, Isiraeri mulalulalu; kaakano Mukama asobola okubaliisa ng'omwana gw'endiga mu ddundiro eggazi? Efulayimu yeegasse n'ebifaananyi, muleke asigale nga bwali. Ekibinja ky'abatamivu, beewaddeyo eri obwenzi; baagala nnyo ensonyi, okusinga bwe baagala ekitiibwa. Empewo ebasanikidde mu biwaawaatiro byayo, era balikwatibwa ensonyi olw'ebyoto byabwe. Muwulire kino, mmwe bakabona! era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka! musaliddwa omusango okubasinga mmwe; kubanga mwafuuka ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa n'ekitegebwa ku Taboli. Era mwafuuka obuya obwasimibwa e Sittimu. Naye ndibabonereza bonna. Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa; kubanga kaakano, ayi Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiraeri ayonoonese. Ebikolwa byabwe tebibaganya kukyukira Katonda waabwe, kubanga omwoyo ogw'obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama. Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa mu maaso ge; Efulayimu alyesittala olw'omusango ggwe; Yuda alyesittalira wamu nabo. Baligenda n'embuzi zaabwe n'ente zaabwe okunoonya Mukama, naye tebalimulaba; kubanga abavuddeko. Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana abatali babe; kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe. Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama, mulaye eŋŋoma e Besaveni; mukankane ayi Benyamini. Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okuweerwako ekibonerezo; wakati mu bika bya Isiraeri nnangirira ebikakafu. Abakungu ba Yuda baafuse ng'abo abajjulula akabonero k'ensalo; kubo ndibayiwako obusungu bwange ng'amazzi. Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okugoberera ebitaliimu. Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng'ennyenje, n'eri ennyumba ya Yuda ng'okuvunda. Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka omukulu, kyokka tayinza kubawonya, wadde okuvumula ekiwundu kyammwe. Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento, eri ennyumba ya Yuda; nze, nze mwene, nditaagulataagula ne nvaawo; ndibatwalira ddala so tewaliba wa kubawonya. Ndiddayo nate mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange, era mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya nga bagamba nti: “Mujje tudde eri Mukama; kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya; ye yatufumita; era ye alitunyiga. Oluvannyuma lwe nnaku bbiri alituzaamu obulamu, ku lunaku olwokusatu alitusitula, tulyoke tubeera balamu mu maaso ge. Tusobozese okumanya, tusobozese okunyiikira okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkakakkalira ng'enkya; alijja gyetuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi bwefukirira ettaka.” Naakukola ntya, ayi Efulayimu? Naakukola ntya ayi Yuda? Okwagala kwo kuliŋŋaanga ekire eky'enkya, ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali. N'olwekyo mbatemyeteme nga nkozesa bannabbi, mbassiza ne bigambo eby'omu kamwa kange, era n'omusango gwange galiŋŋaanga ekitangaala. Kubanga njagala okwagala okutuukiridde so si ssaddaaka; okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa. Naye bo, era nga Adamu basobezza endagaano: era bankuusizzakuusizza. Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi. Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe biteega omusajja, bw'ekityo n'ekibiina ekya bakabona bwe kyekuŋŋaanya awamu; batemulira abantu mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obutemu. “ Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve; obwenzi bwa Efulayimu buli eyo, Isiraeri ayonoonese. Era naawe, ayi Yuda, okukungula kutegekeddwa, bwe ndikomyawo emikisa gy'abantu bange.” Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'ebikolwa ebibi ebya Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba, omubbi amenya n'ayingira, n'ekibiina eky'abanyazi banyaga ebweru. Naye tabalowooza nti njijukira emirimu gyabwe emibi, kaakano ebikolwa byabwe bo bibeetoolodde; era biri mu maaso gange. Olw'obubi bwabwe basanyusa kabaka, era basanyusa n'abakungu nga babalimbalimba. Bonna benzi; baliŋŋaanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekeraawo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka. Ku lunaku lwa kabaka waffe, abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge; yagolola omukono gwe wamu n'abanyomi. Kubanga okufaanana n'akabiga emitima gyabwe gibuubuuka n'ekiruyi; ekiro kyonna obusungu bwabwe bwaka, ku makya bubuubuuka ne bwaka ng'omuliro. Bonna bookya ng'akabiga, era balya abafuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde, tewali n'omu ku bo ankaabirira. Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu omugaati ogutakyusibwa. Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi, atobese envi, so tamanyi. Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa gy'ali; era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, newakubadde ebyo byonna nga bimaze okubaawo. Era Efulayimu aliŋŋaanga ejjiba essirusiru eritalina magezi, bakoowoola Misiri, bagenda eri Obwasuli. Bwe baliba bagenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga, ndibakangavvula olw'ebikolwa byabwe ebibi. Zibasanze, kubanga bawabye okunvaako! okuzikirira kubatuukeko, kubanga banjemedde! nandibanunudde, naye banjogeddeko eby'obulimba. Tebankaabira kuva mu mutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe, olw'eŋŋaano n'omwenge, ne banjeemera. Newakubadde nga nnabayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi. Bakyukira Baali; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'olulimi lwabwe oluvuma, olw'ekyo mulifuuka ekisekererwa mu nsi y'e Misiri. Teeka ekkondeere ku mumwa gwo, kubanga ensega eri waggulu ku nnyumba ya Mukama, kubanga bamenye endagaano yange, era bajeemedde amateeka gange. Balinkaabira nga bagamba nti, Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi. Isiraeri asudde ekirungi; omulabe alibayigganya. Baatekawo bakabaka naye nga tebayise mu nze; baalonda abakungu nga sitegedde. Mu ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe beekoledde ebifaananyi ebinaabaviirako okuzikirira. Ŋŋaanyi ennyana yo, ayi Samaliya; obusungu bwange bubabuubuukirako, kinaatwala bbanga ki bonna okuba abalongoofu, mu Isiraeri? Omukozi ye yakikola; so si Katonda. Ennyana ye Samaliya erimenyebwamenyebwa. Kubanga basiga mbuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu. Eŋŋaano eyimiridde terina birimba, kale teyinza kubala mmere; singa yali yakubala, bannamawanga bandigiridde. Isiraeri amiriddwa ddala, kaakano bali mu mawanga ng'ekibya ekitaliiko kye kigasa. Kubanga bambuse eri Obwasuli, ng'entulege etambulatambula yokka; Efulayimu aguliridde baganzi be. Weewaawo, newakubadde nga bagulirira ababayambako mu mawanga, mangu nnyo nja kubakuŋŋaanya; era balisirikiriramu ekiseera okufuka amafuta ku ba kabaka n'abalangira. Kubanga Efulayimu ayongedde okuzimba ebyoto ebireeta okwonoona, ebyoto kyebivudde bibeera gy'ali eby'okumuleetera okwonoona. Newakubadde nga mmuwandiikira amateeka gange enkumi ne nkumi, bandigatutte nga amagwira. Baagala ssaddaaka; bassaddaka ennyama era ne bagirya; naye Mukama tabasanyukira, kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe era n'ababonereza olw'ebibi byabwe; baliddayo mu Misiri. Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, era azimbye embiri; Yuda azimbye ebibuga bingi ebiriko enkomera, naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo. Tosanyuka, ayi Isiraeri! Temusanyuka ng'abantu abalala; kubanga oyenze n'okuva ku Katonda wo, oyagadde empeera y'omwenzi ku buli gguuliro. Egguuliro n'essogolero tebiribalisa, era n'omwenge omusu gulimuggwaako. Tebalisigala mu nsi ya Mukama; naye Efulayimu aliddayo mu Misiri, era banaalyanga emmere eteri nnongoofu. Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama; era tebalimusanyusa ne ssaddaaka zaabwe. Emigaati gyabwe giriba nga emigaati gy'abakungubazi, bonna abanaagiryangako banaabanga abatali balongoofu; kubanga emigaati gyabwe ginaabanga gya kuwonya njala yaabwe kyokka; tegitwalibwenga mu nnyumba ya Mukama. Mulikola ki ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, ne ku lunaku olw'embaga ya Mukama? Kubanga, laba, bagenda mu Bwasuli; Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika. Omwennyango gulyemala ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa, n'amaggwa galibeera mu n'eweema zaabwe. Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya. Nnabbi musirusiru, omusajja aliko omwoyo alaluse, olw'obutali butuukirivu bwammwe obungi, era n'obukyayi obungi. Nnabbi ye mukuumi wa Efulayimu, abantu ba Katonda wange, songa ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda. Beeyonoonye nnyo nnyini, nga mu nnaku ez'e Gibeya, Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, alibabonereza olw'ebibi byabwe. Nga emizabbibu mu ddungu, bwe n'asanga Isiraeri, ng'ebibala ebisooka okwengera ku mutiini, mu mwaka gwagwo ogwolubereberye, bwe nnalaba bajjajjammwe. Naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira Baali, ne bafuuka eky'omuzizo ng'ekyo kye baayagala. Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ng'ekinnyonyi; tewaliba kuzaala, newakubadde okubeera olubuto, wadde okufuna olubuto. Newakubadde nga baliba balera abaana baabwe, era naye ndibabaggyako, ne batasigazaawo mulamu n'omu, weewaawo, ziribasanga bwe ndibavaako! Abaana ba Efulayimu, nga bwendaba, baategekeddwa okuliibwa; Efulayimu ateekeddwa okukulembera abaana be bagende battibwe. Bawe ayi Mukama, olibawa ki? Bawe olubuto oluvaamu n'amabeere agataliimu mata. Buli bubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; eyo gye natandikira okubakyawa. Olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange, siribaagala nate, abakungu baabwe bonna bajeemu. Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala, weewaawo, newakubadde nga bazaala, era naye nditta abaana baabwe abaagalwa. Katonda wange alibasuula kubanga tebaamuwulira, era baliba mmomboze mu mawanga. Isiraeri muzabbibu ogubala ennyo, ng'ebibala bye bwe byeyongeranga obungi, bw'atyo naye gyeyakoma okuzimba ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, n'empagi ze gyezeyongera okuba ennungi. Omutima gwabwe mulimba, kaakano balina okwettika omusango gwe. Katonda ajja kumenyawo ebyoto byabwe, era azikirize n'empagi zaabwe. Mazima kaakano banaayogera nti, “Tetulina kabaka, kubanga tetutya Mukama; ne kabaka ayinza kutukolera ki?” Boogera bigambo bugambo, nga balayira eby'obulimba baalagaana endagaano; ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro. Abali mu Samaliya bakankana olw'ennyana ey'e Besaveni. Abantu baakyo baligikungubagira, ne bakabona baakyo abasinza ebifaananyi baligiwuubaalira, olw'ekitiibwa kyayo ekigivuddeko. Yee, ekintu ekyo kiritwalibwa e Bwasuli, ng'ekirabo kya kabaka omukulu. Efulayimu aliswazibwa, ne Isiraeri alikwatibwa ensonyi olw'ekifaananyi kye. Kabaka w'e Samaliya alizikirira, ng'ekibajjo ky'omuti kungulu ku mazzi. Ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, okwonoona kwa Isiraeri, birisanyizibwawo; amaggwa n'amatovu galimerera ku byoto byabwe, era baligamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n'obusozi nti, “Mutugweko.” Okuva mu nnaku za Gibeya, wayonoona, ayi Isiraeri, eyo gye beyongerera. Olutalo terulibakwatira e Gibeya? Ndirumba abantu bano aboonoonyi ne mbakangavvula; n'amawanga galikuŋŋaanyizibwa okulwana nabo, era balibonerezebwa olw'okusobya kwabwe okunene. Efulayimu nte nduusi eyigirizibbwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano; era nditaliza ensingo ye ennungi, naye nditeeka Efulayimu ku kikoligo, Yuda alikabala ne Yakobo alikuba amavuunike. Mwesigire obutuukirivu, mukungule okwagala okwannamaddala; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesezaako obutuukirivu. Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba kubanga weesiganga amagaali go, n'abasajja bo abalwanyi ab'amaanyi. N'olwekyo oluyoogaano olw'olutalo lulisituka mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birizikirizibwa nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo, era nnyaabwe lwe yatandaggirwa wamu n'abaana be. Bw'ekityo bwe kirikukolebwa, ayi ennyumba ya Isiraeri, olw'okwonoonakwo okunene. Mu mayengo kabaka wa Isiraeri alisalirwako ddala. Isiraeri bwe yali omwana omuto, n'amwagala, era okuva mu Misiri n'ayita mutabani wange. Gye nakoma okubayita, bwe batyo n'abo gye bakoma okunvaako; baasigala baawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole. So nga yali nze eyayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange, naye tebaamanya nga nze n'abawonya. Nabawalula n'emigwa egy'okusaasira, n'ebisiba eby'okwagala, era nabafuukira ng'oyo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, n'akutama ne mbaliisa. Baliddayo mu nsi y'e Misiri; era Omwasuli ye aliba kabaka waabwe, kubanga baagaana okudda gye ndi. Ekitala kirigwa ku bibuga byabwe, kirirya ebyuma by'enzigi zaabwe, era kiribamalawo mu bigo byabwe. Abantu bange bamaliridde okudda emabega okunvaako; beewaddeyo eri ekikoligo, era tewali alikibaggyako. Nnaakuvaamu ntya, ayi Efulayimu! Nnaakuwaayo ntya, ayi Isiraeri! Nnaakufuula ntya nga Aduma! Nnaakuyisa ntya Zeboyimu! Omutima gwange gunyikaala munda yange, okusaasira kwange kwa bbugumu ate kwa gonjebwa. Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siriddayo kuzikiriza Efulayimu; kubanga ndi Katonda so siri muntu; nze Omutukuvu ndi wakati wo, sirijja ku kuzikiriza. Balitambula okugoberera Mukama, era aliwuluguma ng'empologoma; ye, aliwuluguma, era batabani be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba. Balijja nga bakankana ng'ennyonyi eziva mu Misiri, era ng'ejjiba eriva mu nsi y'e Bwasuli, era ndibazzaayo mu nnyumba zaabwe, bw'ayogera Mukama. Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa, naye Yuda akyamanyiddwa Katonda, era akyali mwesigwa eri Omutukuvu. Efulayimu agoba mpewo, era olunaku lwonna agoberera empewo ez'ebuvanjuba; tata kwogera bya bulimba na bya bukambwe, era balagaana endagaano n'Obwasuli, ne batwala n'amafuta mu Misiri. Era Mukama alina ky'avunaana Yuda, era alibonereza Yakobo, ng'amakubo ge bwe gali; era alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri. Mu lubuto, yakwata muganda we ku kisinziiro era bwe yakula n'ameggana ne Katonda. Yameggana ne malayika n'awangula, yakaaba amaziga n'anooya ekisa kye. Yasisinkana Katonda e Beseri, era eyo Katonda naayogera naye. Mukama Katonda ow'eggye, Mukama lye linnya lye. Kale gwe ng'oyambibwa Katonda wo, nnyweza okwagala n'obwenkanya, era olindirire ennaku zonna Katonda wo. Omusuubuzi, mu mikono gye nga mulimu minzaani ey'obulimba, ayagala okunyigiriza. Efulayimu ayogedde nti, “Mazima ndi mugagga, nneefunidde ebintu bingi;” naye obugagga bwe bwonna, tebuyinza kuggyawo musango gwe yakola. Naye nze ndi Mukama Katonda wo, okuva mu nsi y'e Misiri; ndiddamu okubasuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ezatekeebwawo. Era n'ayogeranga ne bannabbi, era nze nnaayongeranga okwolesebwa gyebali, era ne mbagereranga engero nga mpita mu bannabbi. Bwe waba nga waliwo obutali butuukirivu mu Gireyaadi, bwonna buliggwaawo; bwe baba nga mu Girugaali bassaddaaka ente ennume, ebyoto byabwe birifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro. (Yakobo n'addukira mu nsi ya Alamu, era eyo Isiraeri n'aweereza afune omukazi, Isiraeri n'aweereza omuntu omulala, era olw'omukazi n'alunda endiga). Nga ayita mu nnabbi Mukama n'aggya Isiraeri mu Misiri, era ng'ayita mu nnabbi n'amubeezaawo. Efulayimu asunguwazizza nnyo Mukama, omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, Mukama alibabonereza olw'okumunyooma. Efulayimu bwe yayogera, abasajja ne bakankana; yagulumizibwa mu Isiraeri, naye nnafuna omusango ogw'okusinza Baali, n'afa. Era kaakano beeyongera bweyongezi okwonoona, n'ebeekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ebifaananyi ebikoleddwa n'amagezi mu ffeeza yaabwe, byonna mulimu ogw'omukozi ow'amagezi. Muweeyo ssaddaaka eri bino, bwe boogera, abasajja banywegera ennyana! N'olwekyo kyebaliva babeera nga kalenge ow'oku makya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali nkya, baliba ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zifuumuula okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguyita mu kituli ne gufuluma. Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi mulala okuggyako nze. Yali nze eyakumanyira mu ddungu, mu nsi eyeekyeya; Naye bwe baalya ne bakutta, bwe bajjula, omutima gwabwe ne gwegulumiza; bwe batyo ne banneerabira. Bwentyo ndibeera gyebali ng'empologoma, era ng'engo nditeegera mu kkubo. Ndibagwako ng'eddubu ennyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza ne mbikkula amabeere gaabwe, era eyo ndibalya ng'empologoma; ng'ensolo ey'omunsiko bwe yandibataaguddetaagudde. Ndi kuzikirira ggwe, ayi Isiraeri. Ani aliyinza okukuyamba? Kabaka wo nno ali ludda wa, okukulokola; bali ludda wa abafuzi bo, okukulwanirira abo bewayogerangako nti, “Mumpe kabaka n'abafuzi?” Mbawadde bakabaka nga ndiko obusungu, era mbabaggyeeko nga ndiko ekiruyi. Obutali butuukirivu bwa Efulayimu busibiddwa; ekibi kye kiterekeddwa. Obubalagaze bw'omukazi alumwa okuzaala bulimutuukako, ye mwana atalina magezi; kubanga ekiseera kye kituuse aleme okulwa mu kifo omuyita abaana nga bazaalibwa. Ndibanunula eri amaanyi ag'emagombe? Ndibagula okuva eri okufa? Ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? Ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? Okusaasira kukwekeddwa okuva mu maaso gange. Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, nze Mukama ndisindika embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, okuva mu ddungu, n'ekaza enzizi zaabwe, ensulo ye n'eggwaawo, erinyaga eby'obugagga byonna ebisanyusa ebyaterekebwa. Samaliya alibaako omusango, kubanga ajeemedde Katonda we, baligwa n'ekitala, abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa. Komawo ayi Isiraeri, eri Mukama Katonda wo; kubanga weesitadde olw'obutali butuukirivu bwo. Mugende n'ebigambo era mudde eri Mukama, mumugambe nti, “Ggyawo obutali butuukirivu bwaffe bwonna, okkirize ebirungi, naffe tunawaayo ekibala eky'emimwa gyaffe. Asuli talituwonya; tetulyebagala mbalaasi; so tetuligamba nate, ‘Katonda waffe,’ eri emirimu gye mikono gyaffe. Mu ggwe bamulekwa mwebafunira okusaasirwa.” Ndiwonya obutali butuukirivu bwabwe; ndibaagala mu ddembe, kubanga obusungu bwange bukyuse ne bubavaako. Ndiba ng'omusulo eri Isiraeri; alimulisa ng'eddanga, era alisimba emirandira gye nga Lebanooni. Amatabi ge galyagaagala, obulungi bwe buliba ng'omuzeyituuni, n'akaloosa ke nga Lebanooni. Balikomawo n'ebabeera wansi w'ekisiikirize kyange, baligimuka ng'ennimiro, ne bamulisa ng'omuzabbibu, akawoowo kaabwe kaliba ng'omwenge ogwa Lebanooni. Efulayimu, kiki kyenina okukola ne ebifaananyi? Nze nkuddamu era ne nkunoonya. Ninga omuberosi omugimu, okuva gye ndi ebibala byo gy'ebiva. Buli alina amagezi ategeere ebintu bino; buli alina okwawula, abimanye; kubanga amakubo ga Mukama matuufu, era abatuukirivu baagatambuliramu; naye abajeemu bagesittalako. Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yoweeri mutabani wa Pesweri. Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege amatu, mmwe mwenna abatuula mu nsi ya Yuda! Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe? Oba mu biro bya bajjajjammwe? Kino mukibuulire abaana bammwe, n'abaana bammwe bakibuulire abaana baabwe, n'abaana baabwe bakibuulire ab'emirembe egiriddirira. Ebyo akawuka bya kafissizzawo enzige ebiridde; n'ebyo enzige bye fissizzaawo kalusejjera kabiridde; n'ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde. Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomerevu, kubanga gumaliddwawo okuva mu kamwa kammwe. Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ly'amaanyi, era omuwendo gwabwe tegubalika; amannyo gaalyo galinga ag'empologoma, n'amasongezo gaalyo galinga ag'empologoma enkazi. Lizikirizza emizabbibu gyange, era lyabuluzamu emiti gyange emitiini; ligisasambuddeko ebikuta era ligisulidde ddala wansi; amatabi gaagyo gafuuse meeru. Kukungubaga ng'omuwala embeerera eyesibye ebibukutu bw'akungubagira bba, ow'obuvubuka bwe. Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddwawo okuva mu nnyumba ya Mukama. Bakabona bakungubaga, abaweereza ba Mukama. Ennimiro zizise, ensi ewuubaadde; kubanga eŋŋaano ezikiriziddwa, omwenge omusu guweddewo, n'amafuta gaweddewo. Munakuwale mmwe abalimi, mukungubage mmwe abawawaagula emizabbibu, olw'eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nnimiro bizikiridde. Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera, omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro giwotose; era n'essanyu lya baana b'abantu liweddewo. Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab'oku kyoto. Mugende munda, muyite mu kiro nga muli mu bibukutu, mmwe abaweereza ba Katonda wange! Kubanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bikwatiddwa okuva mu nnyumba ya Katonda wammwe. Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe, era mumukaabire Mukama. Zitusanze olw'olunaku! Kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna. Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, essanyu n'okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye? Ensigo zivunda okuva mu bikuta byazo, amawanika galekeddwawo, amaterekero goonooneddwa; kubanga eŋŋaano eweddewo. Ensolo nga zisinda! Amagana g'ente gasobeddwa, kubanga tezirina muddo; weewaawo, n'ebisibo by'endiga birekeddwawo. Ayi Mukama, ggwe nkaabirira; kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro. Weewaawo, ensolo ez'omu nsiko zikuwankirawankira; kubanga emigga egy'amazzi gikalidde, n'omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu. Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mukube enduulu ku lusozi lwange olutukuvu! Abantu bonna abali mu nsi bakankane, kubanga olunaku lwa Mukama lujja, era luli kumpi, olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, era olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte! Ng'ekizikiza ekikutte, lisaasanira ku nsozi, abantu abangi era abamaanyi; tewabangawo babafaanana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okuyita mu myaka emirembe gyonna. Omuliro gwokya mu maaso gaabwe, era emabega waabwe ennimi z'omuliro zaaka. Ensi eri ng'Olusuku lwa Adeni, oluli mu maaso gaabwe, naye emabega waabwe ddungu eryazika, era tewali kiwona ku zo. Enfaanana yaazo eringa ey'embalaasi, era ziddukanga ng'embalaasi bwe zidduka mu lutalo. Zibuukira ku ntikko z'ensozi, nga ziwuuma ng'amagaali, era ng'omuliro bwe gutulika nga gwokya ebisambu, ng'eggye ery'amaanyi eryetegese okulwana olutalo. Mu maaso gaazo abantu banyikaavu; amaaso ga buli omu gafuuse ebbala. Ng'abalwanyi zirumba, ng'abasserikale zirinnya bbugwe, era zitambulira mu kkubo lyazo, nga tewali n'emu eva ku mugendo. Tewali eziyiza ginnaayo kugenda, buli emu esimba n'etambulira mu kkubo lyayo, era ziwaguza awali eby'okulwanyisa, ne watabaawo aziziyiza. Zifubutuka ne zizinda ekibuga, zibuna bbugwe wa kyo, ziwalampa ne zituuka mu nnyumba, ziyingirira mu madirisa ng'omubbi. Ensi ekankana mu maaso gaazo, eggulu lijugumira. Enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo. Mukama ayogera n'eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye, kubanga eggye lye ddene era lya maanyi. Oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi. Olunaku lwa Mukama lukulu lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulugumira? “Era naye ne kaakano,” bw'ayogera Mukama, “munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala; era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe.” Mukyukire Mukama Katonda wammwe, kubanga wa kisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi. Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa, n'abalekera omukisa, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunnywa eri Mukama Katonda wammwe? Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mulangirire okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu. Mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato, n'abawere abayonka, omugole omusajja ave mu kisenge kye, n'omugole omukazi ave mu nju ye. Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti, “ Saasira abantu bo, ayi Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, n'amawanga okubafuga. Kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ” Awo Mukama n'alumirirwa ensi ye, era n'asaasira abantu be. Awo Mukama n'addamu n'agamba abantu be nti, “Laba, mbaweereza eŋŋaano, omwenge n'amafuta, era mulikutta; so siribafuula nate kivume eri amawanga.” “Ndibaggyako eggye ery'obukiikakkono ne nditwala wala, era ndibagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, mu maaso ge mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'emabega we mu nnyanja ey'ebugwanjuba; ekivundu n'okuwunya kwabwe okubi kulirinnya, kubanga bakoze ebikulu. Totya, ggwe ensi, sanyuka era ojaguze; kubanga Mukama akoze ebikulu. Temutya mmwe ensolo ez'omu nsiko; kubanga amalundiro ag'omu ddungu gaafuuse ga kiragala, omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gibaze ebibala bingi. Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukama Katonda wammwe; kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba eya ttoggo n'eya ddumbi, nga bwe yagibatonnyesezanga edda. Amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galibooga omwenge n'amafuta. Era ndibaddizawo emyaka gye mwafiirwa ne byonna enzige bye zalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye eddene lye n'asindika okubalumba. Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mukkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde eby'ekitalo. Abantu bange tebaliddayo nate kuswazibwa. Mulimanya nga ndi wakati mu mmwe Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala. Abantu bange tebaliddayo nate kuswazibwa.” Awo olulituuka oluvannyuma lw'ebyo ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa. Ku baddu n'abazaana bammwe mu nnaku ezo nabo ndibafukako omwoyo gwange. Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka. Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi gulifuuka omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunatuuka. Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama, alirokoka; kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, era mu baliwonawo, mulibaamu abo Mukama b'aliyita. Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndizzawo emikisa gya Yuda ne Yerusaalemi, ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosafaati, kale ndisinzira eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyiriza mu mawanga ne bagabana Isiraeri ensi yange. Era bakubidde abantu bange obululu, baatunda omulenzi okusasulira omukazi omwenzi, ne batunda omuwala okugula omwenge, banywe. Kiki kyemuli gyendi mmwe Ttuulo ne Sidoni n'ebitundu byonna ebya Abafirisuuti? Mulina ekintu kye musasulira? Bwe muba mulina kye munsasula, nange ndyanguwa mangu okubeesasuza. Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, era ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi eby'omuwendo. Mwatunda abantu abe Yuda n'abe Yerusaalemi eri Abayonaani, ne mubatwala ewala n'ensalo yaabwe. “Naye kaakano nja kubaggya gye mwabatunda, era nammwe ndyoke mbasasule ekyo kye mwabakola. Nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe eri abantu ba Yuda, nabo balibaguza abasajja ab'e Seba, eggwanga eriri ewala; kubanga Mukama ya kyogedde.” Mulangirire kino mu mawanga, mutegeke olutalo, muyite abasajja ab'amaanyi; abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke. Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu. Omunafu ayogere nti, “Ndi mulwanyi.” Mwanguwe mujje, mmwe mwenna ab'amawanga ageetooloddewo mwekuŋŋaanyize eyo. Leeta gyetuli abalwanyi bo, ayi Mukama. Amawanga gasituke gaserengete mu kiwonvu kya Yekosafaati; kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetooloddewo. Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde. Muyingire, musambe, kubanga essogolero lijjudde. Amabanvu gayiika, kubanga obubi bwabwe bungi. Oluggube, oluggube, lw'abantu bali mu kiwonvu omw'okusalirawo! Kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu omw'okusalirawo. Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zireseeyo okwaka kwazo. Awo Mukama awuluguma ng'asinziira mu Sayuuni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemi, era eggulu n'ensi bikankana. Naye Mukama kiddukiro eri abantu be era ekigo eky'amaanyi eri abaana ba Isiraeri. Bwe mutyo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu. Yerusaalemi kiriba kitukuvu, era tewaliba bannamawanga abalikiwangula nate. Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, ne lufukirira ekiwonvu Sittimu. Misiri erifuuka matongo, ne Edomu erifuuka ddungu eryalekebwawo, olw'obukambwe obwakolebwa ku bantu ab'omu Yuda, kubanga bayiwa omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe. Naye Yuda alibeeramu abantu ennaku zonna, era ne Yerusaalemi okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna anaabanga bwatyo. Era ndiwoolera eggwanga olw'abo abattibwa, siritaliza bazziza musango, kubanga Mukama abeera mu Sayuuni. Bino bye bigambo Mukama bye yabikkulira Amosi eyali omu ku basumba b'e Tekowa, nga bifa ku Isiraeri mu kiseera kyo bufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu bufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri, ng'ekyabulayo emyaka ebiri okutuuka ku kukankana kw'ensi. Amosi n'agamba nti, “Mukama awulugumira ku Lusozi Sayuuni, era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi. Amalundiro gakala n'omuddo ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri guwotoka.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Ddamasiko, bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza. Baabonyaabonyeezza abantu b'e Gireyaadi nga baabasalasala n'ebyuma. Kale ndiweereza omuliro ku lubiri lwa kabaka waabwe Kazayeeri, era gulyokya n'ebigo bya kabaka Benukadadi. Ndimenya aguuma agasiba enzigi z'ekibuga Ddamasiko, era n'abantu abamu balisalibwako okutuukira ddala mu kiwonvu kye Aveni, n'oyo akwata omuggo gw'obwakabaka ndimumalawo okuva mu nnyumba ya Besi-Edeni. Abantu b'e Busuuli balitwalibwa mu busibe e Kiri, bwatyo bw'ayogera Mukama.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Gaza bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga batwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, ne babatunda mu Edomu. Kale ndiweereza omuliro ku bbugwe we kibuga Gaza, ne gwokya amayumba gaakyo. Ndimalawo abafuzi b'omu bibuga Asudodi ne Asukulooni. Ndibonereza ekibuga Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bwatyo bw'ayogera Mukama Katonda.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Ttuulo bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga baawaayo eggwanga lyonna nga basibe eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'ab'oluganda eyali ekoleddwa. Kale ndiweereza omuliro ku bbugwe we kibuga Ttuulo, gwokye amayumba gaakyo.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Edomu bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bayigganyanga baganda baabwe aba Isiraeri ne babatta awatali kusaasira n'akatono. Obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma, ne batabusalako. Kale ndiweereza omuliro ku kibuga Temani, era gulyokya amayumba g'e Bozula.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Amoni bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga mu ntalo ze baalwana okugaziya ensi yaabwe, baabaaga abakazi abali embuto ab'e Giriyaadi. Kale ndikuma omuliro mu bbugwe we kibuga Labba, era gulyokya amayumba gaakyo. Walibaawo okuleekaana ku lunaku olw'olutalo, era okulwana kuliwuuma nga kibuyaga. Kabaka waabwe alitwalibwa wamu n'abakungu be mu busibe, bwatyo bw'ayogera Mukama.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu be Mowaabu bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'ebagafuula evvu. Kale ndiweereza omuliro ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ge Keriyoosi. Abantu be Mowaabu balifiira mu kasasamalo k'olutalo, ng'abatabaazi baleekaana, nga bwe bafuuwa amakkondeere. Ndizikiriza omufuzi we Mowaabu wamu n'abakungu be bonna, bwatyo bw'ayogera Mukama.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Yuda bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, era tebakutte biragiro byange. Eby'obulimba bajjajjaabwe bye baagobereranga bibawabizza. Kale ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba g'omu Yerusaalemi.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu ba Isiraeri bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga batunze mu buddu abantu abatalina musango, n'abaavu abatasobola kusasulira wadde omugogo gw'engatto. Balinnyirira abatesobola ng'abalinnyirira enfuufu ey'oku nsi, era bakyamya olugendo olw'abawombeefu. Omulenzi ne kitaawe benda ku muwala omu, bwe batyo ne boonoona erinnya lyange ettukuvu. Bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze baggye ku baavu ng'omusingo. Mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanziza. Naye mmwe abantu bange kwali kubalumirwa, nze okusaanyaawo Abamoli nga mulaba, abaali abawanvu ng'emivule, era ab'amaanyi ng'emyera. Ebyabwe byonna nabizikiriza okuva ku bibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi. Nnabaggya mu nsi y'e Misiri ne mbakulembera emyaka ana mu ddungu, ne ndyoka mbawa ensi y'Abamoli ebe yammwe. Nnalonda abamu ku batabani bammwe okuba bannabbi, n'abamu ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, mmwe abaana ba Isiraeri? Bw'ayogera Mukama. Naye mmwe mwadda mu kuwa Abawonge omwenge okunywa, ne muwa bannabbi ebiragiro nga mubagamba nti, ‘Temulagula.’ Kale kaakano nja kubanyigiriza ku ttaka, mube ng'ekigaali ekyetisse ebinywa by'eŋŋaano. Amaanyi agokudduka galibula ow'embiro, ab'amaanyi baliggwaamu endasi, n'omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe. Abalasi b'obusaale tebaliguma kuyimirirawo, omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talisobola kuwonya bulamu bwe. Ku lunaku olwo, abalwanyi nnamige balisuula eby'okulwanyisa byabwe ne badduka bukunya, bwatyo bw'ayogera Mukama.” Muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, eggwanga lyonna lye yaggya mu nsi ey'e Misiri, agamba nti, “Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi ne mbalonda, kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna. Ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga batabaganye? Empologoma ewulugumira mu kibira nga terina muyiggo? Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo nga terina ky'ekutte? Ekinyonyi kikwatibwa mu mutego nga tebakiteze kakunizo? Omutego gumasuka nga tewali kigumasudde? Bafuuwa ekkondeere ly'olutalo mu kibuga, abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga, Mukama nga si ya kaleese? Mazima Mukama Katonda taliiko ky'akola wabula ng'amaze okukibikkulira abaweereza be, bannabbi. Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde, ani ataawe bubaka bwe?” Mulangirire mu mbiri z'omu Asudodi n'ez'omu Misiri, mugambe nti, “Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe obujagalalo obuli eyo, n'ejjogo eririyo.” Mukama agamba bwati, “Abantu abo tebamanyi kukolera ku mazima: bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebinyage n'ebibbe.” Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, “Omulabe kyaliva yeetooloola ensi yaabwe, n'amenya ebigo byabwe, n'anyaga eby'omu mayumba gaabwe.” Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Ng'omusumba bw'asuuzaako amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu eky'endiga eriiriddwa empologoma, bwe batyo n'abaana ba Isiraeri ababeera mu Samaliya bwe baliwonawo abatono ku abo kaakati abagandaalira mu buliri obw'omuwendo omungi.” “Muwulire era mulabule ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye. Ku lunaku lwe ndibonereza Isiraeri olw'ebyonoono bye, era ndisaanyaawo n'ebyoto bye e Beseri, n'amayembe g'ekyoto galisalibwako ne gagwa wansi. Ndisaanyaawo amayumba ge babeeramu mu budde obw'obutiti, n'amayumba ge babeeramu mu budde obw'ekyeya. Amayumba agatimbiddwa amasanga galisaanawo n'amayumba amanene galizikirizibwa, bw'ayogera Mukama.” “Muwulire ekigambo kino, mmwe abakazi b'e Samaliya, abagezze ng'ente ez'e Basani, abajooga abaavu, abakamula abeetaaga, abagamba ba bbaabwe nti, ‘Muleete omwenge tunywe.’ Mukama Katonda nga bwali omutuukirivu alayidde nti, Laba, ennaku zijja lwe balibatungamu amalobo, ne babaggyawo mwenna, nga babasika ng'ebyennyanja. Muliwalulwa okuva mu mayumba gammwe ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bisenge, musuulibwe ku Kalumooni, bw'ayogera Mukama.” “Mujje e Beseri mukole ebibi, mugende e Girugaali mwongere okwonoona. Muleete ssaddaaka zammwe buli nkya, n'ebitundu byammwe eby'ekkumi buli nnaku essatu. Muweeyo ssaddaaka ey'okwebaza ey'emigaati egizimbulukusiddwa, mulangirire ebiweebwayo bye muwaayo nga mweyagalidde. Kubanga ekyo kye mwenyumiririzamu, ayi mmwe abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.” “Nabaleetera enjala mu bibuga byammwe byonna, emmere n'ebula mu mayumba gammwe gonna, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.” “Naziyiza enkuba okutonnya ng'ekyabulayo emyezi esatu okutuuka ku makungula: Natonnyesa enkuba ku kibuga ekimu, ne ngiziyiza okutonnya mu kibuga ekirala. Yatonnyanga mu nnimiro emu, ate mu ndala n'etatonnya, ebirime ne biwotoka ne bikala. Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne bagenda mu kirala okunywa amazzi, naye ne batasangayo gamala kunywa kukuta. Naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.” “Ebirime byammwe na bigengewaza ne mbitekamu n'obukuku. Enzige nazo ne zirya ensuku zammwe ez'emizabbibu, emitiini gyammwe n'emizeyituuni gyammwe. Naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.” “Nabasindikira kawumpuli nga gwe n'asindika mu b'e Misiri. Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n'ekitala, n'embalaasi zammwe ne zinyagibwa. Najjuza ennyindo zammwe ekivundu ky'emirambo mu nsiisira zammwe, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.” “Nazikiriza abamu ku mmwe nga bwe nnakola ab'e Sodomu ne Ggomola. mmwe abaawonawo ne muba ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.” “Kyendiva nkubonereza, ayi Isiraeri: N'olwekyo weeteeketeeke okunsisinkana gwe Isiraeri.” Kubanga oyo abakolako ye Katonda eyatonda ensozi, eyatonda embuyaga, era ategeera omuntu by'alowooza. Yafuula enkya okubeera ekiro, era atambulira ku ntikko z'ensozi. Mukama Katonda ow'eggye lye linnya lye. Muwulire ebigambo bino eby'ennaku bye nnyimba okubakungubagira, ayi ennyumba ya Isiraeri. “Isiraeri omuwala embeerera agudde, taliddayo kuyimuka. Agudde wansi mu nsi ye, talina wa kumuyimusa.” Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ky'omu Isiraeri ekyasindikanga abalwanyi olukumi (1,000) mu lutalo kirisigazaawo kikumi (100), n'ekyo ekyasindikanga ekikumi (100) kirisigazaawo kkumi (10) bokka.” Bw'ati Mukama bw'agamba ennyumba ya Isiraeri nti, “Munnoonye, kale munaabanga balamu Naye temugenda Beseri kusinza, so temuyingiranga mu Girugaali, oba okunnonyeza e Beeruseba: kubanga abantu be Girugaali balitwalibwa mu busibe, ne Beseri kirisanyizibwawo ddala.” Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu, aleme okubuubuuka ng'omuliro ku nnyumba ya Yusufu, ne gugyokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri. Zibasanze mmwe, abatasala mazima, ne musuula wansi obutuukirivu, munoonye oyo eyakola emmunyeenye zi kakaaga n'entungalugoye, afuula ekizikiza okuba omusana, afuula obudde obw'emisana ne bufuuka ekiro. Ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Mukama lye linnya lye. Mu bwangu obwe kitalo, era awatali kulabula azikiriza ab'amaanyi wamu n'ebigo byabwe. Mukyawa oyo alamula mu bwenkanya, era mutamwa oyo ayogera amazima. Kale nga bwe munyigiriza abaavu, ne mubanyagako eŋŋaano yaabwe, amayumba ag'amayinja amateme ge muzimbye temuligabeeramu, era n'emizabbibu emirungi gye musimbye temulinywa ku mwenge gwagyo. Mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'emisango gye muzzizza bwe gyenkana obunene. Muyigganya abatuukirivu, mulya enguzi, era temusala misango gy'abaavu mu bwenkanya. Omugezi kyava asirika mu biseera ebifaanana bwe biti, kubanga biseera bibi. Mufube okukola ebirungi, sso si ebibi, lwe munaabeera abalamu, olwo, Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe, nga bwe mugamba nti ali nammwe. Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, musalenga amazima mu mbuga zammwe, oboolyawo Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo. N'olwekyo Mukama Katonda ow'eggye, Mukama, agamba bw'ati, “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo, era baligenda baaziirana mu makubo gonna nti, ‘Woowe, woowe!’ Baliyita omulimi okukuba ebiwoobe awamu n'abo abapangisibwa okukungubagira abafu. Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nsuku zonna ez'emizabbibu, kubanga njija okubabonereza mmwe,” bw'ayogera Mukama. Zibasanze mmwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mwagalira ki olunaku lwa Mukama? Kizikiza so si musana. Olunaku lulibeera ng'omusajja adduka empologoma ate n'asisinkana eddubu, oba ng'omuntu bw'ayingira mu nnyumba n'akwata ku kisenge omusota ne gumubojja Olunaku lwa Mukama luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala, luliba lwa kizikiza ekikute omutali katangaala konna. “Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu. Weewaawo, newakubadde nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe eby'obutta, sijja kubikkiriza, era sisanyukira nsolo zammwe ezassava ze muwaayo. Munzigyeeko oluyoogaano olw'ennyimba zammwe, sijja kuwuliriza maloboozi ga nnanga zammwe. Kale muleke amazima gakulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu ng'omugga ogujjula ne gubooga. Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mwandeeteranga ssaddaaka n'ebiweebwayo mu ddungu mu myaka ana (40) gyonna? Naye kaakano nga bwe musinza ebifaananyi bye mwekolera ebya Sikusi, ne Kiyuni, n'emmunyeenye nga be ba katonda bammwe, ebyo bye muba mutwala. N'olwekyo nja kubatwala mu busibe eyo okuyisa e Ddamasiko.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama. Erinnya lye Katonda ow'eggye. “Zibasanze mmwe abali obulungi mu Sayuuni nammwe abatalina kye batya ku lusozi lw'e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga gonna obukulu, abantu gye bajja okunoonya obuyambi. Mugende mutunuulire ekibuga Kalune mulabe; muveeyo eyo ate mugende mu kibuga ekikulu Kamasi; ate muserengete e Gaasi ekibuga ky'Abafirisuuti. Ebibuga ebyo bisinga obwakabaka buno bwombi obulungi? oba bisinga ensi yammwe obugazi? Mugaanyi okukkiriza nti olunaku olubi lunaatera okutuuka, kyokka bye mukola byongera kulusembeza kumpi. Zibasanze mmwe abagalamira ku bitanda eby'amasanga, ne mulya endiga ento, n'ennyana ez'omu bisibo byammwe. Muyimba ennyimba ezitaliimu ku ddoboozi ery'ennanga, era mweyiiyiza ebivuga nga Dawudi bwe yakola. Munywera omwenge mu mpaawo, era mwesiiga omuzigo ogusinga obulungi, naye ne mutanakuwalira kuzikirira kwa Isiraeri. Kale mmwe munaasooka okugenda mu buwanganguse, embaga n'ebinyumu byammwe, mmwe abagayaavu birikoma.” Mukama, Katonda ow'eggye, alayidde nti, “ Nkyawa amalala ga Yakobo, ne ntamwa amayumba gaabwe, kyendiva mpaayo ekibuga kyabwe ne byonna ebikirimu eri omulabe waabwe.” Awo olulituuka abantu kkumi (10) bwe balisigala mu nnyumba emu, balifa. Ow'oluganda lw'omufu, era ateekwa okumuziika, bw'alifulumya omulambo mu nnyumba, alibuuza oyo akyasigadde mu nnyumba nti, “Wakyaliwo omulala ali naawe?” Oli alimuddamu nti, “Nedda.” Ono alimugamba nti, “Sirika, kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama.” Kubanga, Mukama bw'aliragira, ennyumba ennene n'entono zirimenyebwamenyebwa. Embalaasi ziriddukira ku lwazi? Omuntu alimisa ente ku nnyanja? Naye mmwe, obwenkanya mubufudde butwa, n'ekituufu mukifudde kikyamu. Mwenyumiriza nti muli ba maanyi kubanga mwawamba ekibuga Lodebari. Laba, Mukama Katonda ow'eggye agamba nti, “Mmwe abantu ba Isiraeri, ŋŋenda kubasindikira eggwanga okuwamba ensi yammwe, era balibabonyaabonya okuviira ddala awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba.” Bino Mukama Katonda bwe yanjolesa: nnalaba ng'ateekateeka ebibinja by'enzige, nga baakamala okusala omuddo gwa kabaka, era nga gutandika okuddamu okumera. Nnalaba ng'enzige zirya buli kantu akaali mu nnimiro abalamu n'enkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? Kubanga mutono.” Awo Mukama n'akyusa ekirowoozo kye n'agamba nti, “Tekibeere bwe kityo.” Ne nfuna okwolesebwa okulala okuva eri Mukama Katonda: nnalaba ng'ateekateeka omuliro okubonereza abantu. Gwali gulidde ennyanja eyali wansi w'ensi era nga gutandise okwokya olukalu. Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Ayi Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? Kubanga mutono.” Awo Mukama n'akyusa ekirowoozo kye, n'agamba nti, “era na kino tekijja kubeerawo.” Era nate Mukama nandaga okwolesebwa okulala: nnalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekisenge, ekyazimbibwa nga apimisa omugwa ogugera. Awo Mukama n'ambuuza nti, “Amosi, olaba ki?” Ne muddamu nti, “Omugwa ogugera.” Awo Mukama n'agamba nti, “Nkozesa omugwa ogugera, okulaga abantu bange Isiraeri nti; bali ng'ekisenge ekitateredde. sikyaddamu kukyusa kirowoozo kyange nate, ŋŋenda kubabonereza ddala.” Ebifo ebigulumivu ezzadde we lyasinzizanga bijja kuzikirizibwa, n'ebifo ebitukuvu ebya Isiraeri bijja kusaanyizibwawo. Era ab'ennyumba ya kabaka Yerobowaamu ndibatta n'ekitala. Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna byayogera. Kubanga Amosi agamba nti, Yerobowaamu alifiira mu lutalo, era aba Isiraeri bajja kutwalibwa nga basibe mubuwaŋŋanguse okuva mu nsi yaabwe.” Awo Amaziya n'agamba Amosi nti, “Ggwe omulabi, genda, ddayo mu Yuda, okolere eyo ogw'obunnabbi, era gy'oba ofuna emmere gy'olya. Naye tolagulira wano e Beseri: kubanga kino kabaka mw'asinziza, era ye Yeekaalu y'eggwanga.” Awo Amosi n'alyoka addamu Amaziya nti, “Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi, wabula nnali musumba era nga ndabirira emiti emisukomooli: Eyo Mukama gye yanzigya ku mulimu ogw'obulunzi, n'aŋŋamba nti, ‘Genda olagule abantu bange aba Isiraeri.’ Kale nno kaakano wulira Mukama ky'agamba nti, Tolagula bigambo binenya Isiraeri, toyogera bikosa nnyumba ya Isaaka. Mukama kyava agamba bw'ati nti, ‘Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo balittibwa mu lutalo, ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala, naawe kennyini olifiira mu nsi ey'abatali balongoofu, era Isiraeri bateekwa okugyibwa mu nsi yaabwe batwalibwe mu buwaŋŋanguse.’ ” Kuno kwe kwolesebwa kwenafuna okuva eri Mukama Katonda: Yandaga ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. Mukama n'ambuuza nti, “Amosi, olaba ki?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya.” Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri, sijja kuddamu kukyusa kirowoozo kyange, ngenda kubabonereza. Awo ennyimba ez'omu Yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise.” Muwulire kino, mmwe abalinnyirira abatasobola kweyamba, era abaagala okusaanyaawo abaavu abo mu ggwanga lino. Mugamba nti, “Omwezi ogwakaboneka gunaaggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? Ne Ssabbiiti eneggwako ddi, tulyoke tuddemu okutunda? Olwo tulyoke tukendeeze ekipimo ate twongeze emiwendo, tukumpanye nga tukozesa minzaani ezitapima kituufu. Tutunde ebisusunku by'eŋŋaano, tulabe abaavu abatasobola kusasula mabanja, wadde okusasulira omugogo gw'engatto, tubagule bafuuke abaddu baffe.” Mukama, Katonda wa Isiraeri alayidde nti, “Mazima siryerabira ebikolwa byabwe byonna ebibi Ensi erikankana olw'ekyo, era buli muntu agirimu aliwubaala. Ensi eritabanguka n'etumbiira, era n'ekka ng'omugga Kiyira.” “Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama Katonda, “ndiragira enjuba n'egwa mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi emisana. Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga. Ndibamwesaako enviiri zammwe, ne mwambala ebibukutu, ne muba ng'abazadde abakungubagira omwana waabwe gwe babadde balina omu yekka. Olunaku olwo lulibeera lwabubalagaze obungi ennyo.” Ekiseera kijja bw'ayogera Mukama Katonda, lwa lisindika enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ekigambo kya Mukama. Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja Enfu okutuuka ku nnyanja Eya wakati, n'okuva obukiikakkono okutuuka ebuvanjuba. Balidda eruuyi n'eruuyi nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikizuula. “ Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyonta. Abo abalayira ekibi kya Samaliya nga bagamba nti, ‘katonda wo, ayi Ddaani, mulamu!’ Oba nti, ‘katonda w'e Beeruseba mulamu,’ baligwa so tebaliyimuka nate.” Nnalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto, n'alagira nti, “Kuba emitwe gy'empagi za Yeekaalu, emiryango gikankane. Era gimenye gigwe ku mitwe gy'abantu. Abo abasigaddewo ndibattira mu lutalo. Tewaliba ku bo alidduka, wadde awonawo n'omu. Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo, era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, era ndibawanulayo. Ne bwe balyekweka ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri, era ndibanoonya ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw'ennyanja wansi, era ndiragira ogusota gwayo ne gubabojja. Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu busibe, era ndiragira ne battirwa eyo n'ekitala. Nze mmaliridde okubazikiriza, sso si kubakwatirwa kisa.” Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akwata ku nsi n'esaanuuka, ne bonna abagibeeramu ne banakuwala, yonna n'etumbiira ate n'ekka ng'Omugga Kiyira. Ye wuuyo azimba ennyumba ye mu ggulu, era waggulu w'ensi n'ateekawo ebbanga. Ye ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Mukama lye linnya lye. Bwati bw'ayogera Mukama nti, “Mmwe abaana ba Isiraeri mbalowoozako nga bwe ndowooza ku baana b'Abaesiyopya. Nga bwe nnaggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri, bwentyo era bwe nnaggya Abafirisuuti e Kafutooli, n'Abasuuli e Kiri. Nze Mukama Katonda, kaakano nneekalirizza obwakabaka buno obwa Isiraeri obukola ebibi, era ndibusaanyawo ku nsi, naye sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo,” bwatyo bw'ayogera Mukama. “Ndiragira okuwewa ennyumba ya Isiraeri mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ewewerwa mu lugali, okuggyamu bonna abatalina mugaso, mu bantu bange, abo bonna abakola ebibi, era abagamba nti, ‘Akabi tekalitutuukako, wadde okutusemberera,’ balifa n'ekitala.” Mukama agamba nti, “Olunaku lulituuka lwe ndizaawo obwakabaka bwa Dawudi, obuli ng'ennyumba eyagwa. ndibuddaabiriza, ne mbuzzaawo nga bwe bwali edda. Olwo Isiraeri alitwala ekitundu kya Edomu ekisigaddewo n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange,” bw'ayogera Mukama akola kino. “Ennaku zijja,” bw'ayogera Mukama, “akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo. Omwenge omuwoomerevu gulikulukuta okuva ku nsozi ne ku busozi bwonna. Era ndikomyawo abantu bange Isiraeri mu nsi yaabwe. Kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo ettayo ne babibeeramu. Balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu. Ndibasimba abantu bange mu nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bwatyo” bw'ayogera Mukama Katonda wo. Okwolesebwa kwa Obadiya. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ebikwata ku Edomu nti, Tuwulidde ebigambo ebiva eri Mukama, n'omubaka atumiddwa eri amawanga nga agamba nti, “ Musituke! Tusituke tumulwanyise mu lutalo!” Laba, ndikufuula eggwanga ettono, erinyoomebwa ennyo mu mawanga. Amalala ag'omu mutima gwo gakulimbye, ggwe abeera mu mpampagama ez'olwazi, ggwe abeera eyo waggulu; ayogera mu mutima gwe nti, “Ani alimpanulayo eno n'anzisa wansi?” Newakubadde ng'otuumbiira waggulu ng'empungu era ekisu kyo ne kiba ng'ekiri wakati mu munnyeenye, n'eyo ndikuwanulayo ne nkussa wansi, bw'ayogera Mukama. Singa ababbi bajja gyoli, singa abanyazi bajja ekiro, nga wandibadde ozikirizibbwa! Tebandibbyeko ebyo ebibamala? Singa abakuŋŋanya ezabbibu bajja gyoli, tebandireseeko ezimu? Ebya Esawu nga binyagiddwa! Eby'obugagga bwe nga bivumbuddwa! Abantu bonna abaakolagananga naawe bakugobedde ku nsalo; abo bemukkanya nabo bakuwangudde; mikwano gyo beewesiga bakutegedde akatego, tewali kutegeragana. Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama sigenda kuzikiriza abagezigezi okuva mu Edomu, n'okutegeera okuva mu lusozi lwa Esawu? Era abasajja bo abazira, bagenda kwewuunya, ggwe Temani, era abantu bonna okuva ku lusozi lwa Esawu bagenda kuggibwawo ne kitala. Olw'obukambwe obwakolebwa ku muganda wo Yakobo, olijjula ensonyi era oliggibwawo emirembe gyonna. Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunnaku abayise lwe baanyaga ebintu bye, ne bannamawanga ne baayingira mu nzigi ze eza wankaaki, ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe wafaanana ng'omu ku abo. Naawe tewanditunuulidde na ssanyu lunaku lwa mugandawo, olunaku olw'okugwirwako akabi, era tewandisanyukidde lunaku olw'okuzikirira kw'abantu ba Yuda; tewandikudaalidde lunaku olw'obuyinike bwabwe. Tewandiyingidde mu luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku lwe balabiramu ennaku; so naawe tewandikudaalidde kubonaabona kwabwe lunaku kwe balabira ennaku, era tewandinyazze bintu byabwe ku lunaku lwe balabiramu ennaku. Tewandiyimiridde mu masaŋŋanzira okuzikiriza abantu be abawonawo; era tewandiwaddeyo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabi. Kubanga olunaku lwa Mukama lusemberedde amawanga gonna, nga bwe wakola bwe kityo naawe bwe kirikukolebwa; byonna by'okola biridda ku mutwe gwo. Kubanga nga bwe mwanyweranga ku lusozi lwange olutukuvu, bwe kityo amawanga gonna bwe ganaanywanga; weewaawo, ganaanywanga ne gatagatta era galiba ng'agatabangawo. Naye ku lusozi Sayuuni kulibaako abaliwona, era luliba lutukuvu; n'ennyumba ya Yakobo ery'etwalira ebintu byalyo. Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro; n'ennyumba ya Esawu eriba ssubi; baalibokya nabo balyaka, balibazikiririza ddala; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde. Abo abe Negebu balyetwalira olusozi, nabo abe Sefala balitwala ensi y'Abafirisuuti; balitwala ensi ya Efulayimu, n'ensi ey'e Samaliya era Benyamini alitwala Gireyaadi. N'abo ab'eggye lino ery'abaana ba Isiraeri abawaŋŋangukira mu Bakanani, balidda ne bawangula ensi ya Fonisiya okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu ggye ly'abo abawaŋŋangukira mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, baliwamba ebibuga eby'obukiikaddyo obwa Yuda. Era abanunuzi balirinnya ku lusozi Sayuuni bafuge olusozi lwa Esawu; n'obwakabaka buliba bwa Mukama. Awo Mukama n'ayogera ne Yona, mutabani wa Amittayi, ng'agamba nti, “Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire nti okwonoona kwabwe kulinnye ne kutuuka mu maaso gange.” Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama. N'aserengeta e Yopa, n'asangayo ekyombo ekyali kigenda e Talusiisi, n'asasula ebisale by'olugendo n'asaabala omwo agende e Talusiisi, ave mu maaso ga Mukama. Mukama n'asindika omuyaga omungi ku nnyanja, ne gukunta nnyo ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka. Entiisa ey'amaanyi n'ekwata abalunnyanja, buli muntu n'akoowoola katonda we amuyambe. Ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge ekya wansi eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo. Awo omugoba w'ekyombo n'ajja waali n'amugamba nti, “Obadde ki ggwe eyeebase? Golokoka, osabe Katonda wo, oboolyawo anaatusaasira, ne tutazikirira.” Awo abalunnyanja ne bateesa okukuba akalulu balabe oyo eyali avuddeko omutawaana ogwo. Awo ne bakuba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona. Awo abalunnyanja ne bamugamba nti, “Kale tubuulire lwaki otuleetedde akabi kano? Okola mulimu ki? Ova wa? Ova mu nsi ki? Oli wa ggwanga ki?” Yona n'abagamba nti, “Ndi Mwebbulaniya, nsinza Mukama, Katonda ow'omu ggulu, eyakola ennyanja n'olukalu.” Awo abantu ne batya nnyo, ne bamugamba nti, “Kino kiki ky'okoze ggwe?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka ave mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng'ababuulidde. Awo ne bamugamba nti, “Tunaakukola tutya ennyanja etuteekere? ” Kubanga ennyanja yali ng'egenda yeeyongera okufuukuuka ennyo. N'abagamba nti, “Munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera; kubanga mmanyi nti omuyaga guno omungi gubakutte okubalanga nze.” Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale baleme kusuula Yona mu nnyanja, naye ne batayinza kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi, n'ennyanja ne yeyongera okufuukuuka n'ebalemesa. Kyebaava bakoowoola Mukama nga bagamba nti, “Tukwegayiridde, ayi Mukama, tukwegayiridde totuzikiriza olw'ekibi ky'omuntu ono; era totuvunaana kutta muntu ataliiko musango, kubanga ggwe, ayi Mukama, ggwe oyagadde kibe bwe kityo.” Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja, awo omuyaga ogwali ku nnyanja ne gulekerawo. Awo abantu ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama ne beeyama obweyamo. Mukama n'ateekateeka ekyennyanja ekinene kimire Yona; Yona n'amala mu lubuto olw'ekyennyanja ennaku ssatu emisana n'ekiro. Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we ng'ali mu lubuto olw'ekyennyanja. N'agamba nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama N'anziramu; Nasinziira emagombe ne nkukoowoola, N'owulira eddoboozi lyange. Kubanga wansuula mu buziba, wakati mu nnyanja, Amazzi ne ganneetooloola, Amayengo go ag'amaanyi ne gampita kungulu. Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go. Ddala ndiddamu nate okulaba Yeekaalu yo entukuvu?’ Amazzi gansaanikira ne gaagala okunsaanyaawo, Obuziba bw'ennyanja bwanneetooloola, Omuddo ogw'omu nnyanja nga gunneezingiridde ku mutwe gwange. Nnakka wansi ensozi we zisibuka, Mu nsi, enzigi zaayo gye ziba ensibe ennaku zonna. Naye ggwe, ayi Mukama, Katonda wange, onziggye mu bunnya nga ndi mulamu. Bwe n'awulira ng'obulamu bunzigwamu ne njijukira Mukama, N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu Yeekaalu yo entukuvu. Abo abassa omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu beefiiriza kusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde! Naye nze nnaakuwa ssaddaaka yange nga bwe nkutendereza. Naasasula obweyamo bwange. Kubanga obulokozi buva eri Mukama.” Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu. Awo Mukama n'ayogera ne Yona omulundi ogwokubiri, nti, “Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okitegeeze obubaka bwe nakugamba.” Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. Yona n'ayingira mu kibuga, n'atambula olugendo lwa lunaku lumu, n'alangirira nti, “Esigadde ennaku ana (40), Nineeve kizikirire.” Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza obubaka bwa Katonda ne balangirira okusiiba, ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto. Ebigambo bino ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, naava ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye, n'ayambala ebibukutu n'atuula mu vvu. N'aweereza ekiragiro wonna mu Nineeve nga kigamba nti, “Kino kye kiragiro kya kabaka n'abakungu be: Tewaba muntu yenna, ensolo oba ggana n'ekisibo, ekikomba ku mmere wadde okunywa ku mazzi; naye abantu bambale ebibukutu, beegayirire nnyo Katonda. Buli omu ave mu mpisa ze embi, n'ebikolwa bye ebibi. Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye yatusalira n'atuggyako obusungu bwe obukambwe n'atatuzikiriza?” Katonda n'alaba bye bakoze, nga baleseeyo empisa zaabwe embi, n'akyusa okusalawo kwe n'atabazikiriza. Naye Yona n'atasiima n'akatono n'asunguwala. N'asaba Mukama n'agamba nti, “Ayi Mukama, ssaayogera bwe ntyo bwe nali nga nkyali mu nsi y'ewaffe nti ekyo kyennyini ky'olikola? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi, kubanga mmanyi ng'oli Katonda mulungi, ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era atayagala kuleeta bubi. Kale nno, ayi Mukama, nkwegayiridde, ndeka nfe, kubanga kirungi nfe okusinga okuba omulamu.” Mukama n'amuddamu nti, “Ggwe olowooza okoze bulungi okusunguwala?” Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku ludda lwakyo olw'ebuvanjuba, ne yeekolera eyo akasiisira mu makoola, n'atuula mu kisiikirize kyako, n'alinda okulaba ebinaatuuka ku kibuga Nineeve. Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo. Naye Katonda n'ategeka ekiwuka obudde bwe bwakya enkya, ne kiruma ekiryo ne kiwotoka. Awo olwatuuka enjuba bwe yavaayo, Katonda n'asindika embuyaga ey'omu buvanjuba, ey'ebugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe, n'abulako katono okuzirika. Ne yeesabira afe, n'agamba nti, “Waakiri nfe okusinga okuba omulamu.” Katonda n'agamba Yona nti, “Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo?” Yona n'addamu nti, “Nkoze bulungi okusunguwala, era obusungu bwagala kunzita.” Mukama n'amugamba nti, “Osaasidde ekiryo ky'otaakolera mulimu so ky'otaameza; ekyamerera mu kiro kimu, era ne kifa mu kiro ekimu. Nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, omuli abaana abato abasoba mu mitwalo ekkumi n'ebiri (120,000), abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, era omuli n'ensolo ennyingi bwe zityo? ” Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Mikka, Omumolasuuti, mu bufuzi bwa Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, byeyalaba nga bikwata ku Samaliya ne ku Yerusaalemi. Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi ne byonna ebirimu, Mukama Katonda abe mujulirwa gye muli, Mukama ng'asinziira mu Yeekaalu ye entukuvu. Kubanga, laba, Mukama ajja ng'ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi. N'ensozi zirisaanuuka wansi we, n'enkonko ziryatikayatika, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro, ng'amazzi agayiiriddwa okuva ku lusozi. Ebyo byonna biribaawo olw'okwonoona kwa Yakobo era n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? Si Samaliya? Era ekibi eky'ennyumba ya Yuda kiki? Si Yerusaalemi? Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu ttale; ekifo eky'okusimbamu emizabbibu; era ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo. Ebifaananyi byakyo byonna, birisekulwasekulwa, ne birabo byonna biryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yabikuŋŋaanya nga biva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi. Olwa kino kyendiva nkungubaga, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambuddemu engoye zange era nga ndi bwereere; ndikungubaga ng'emisege, ndinakuwala nga bamaaya. Kubanga ekiwundu kye tekiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi. Temukibuulirako mu Gaasi, temukaaba amaziga n'akatono; mu Besuleyafula mwekulukuunye mu nfuufu. Muveeyo, muyitewo mmwe ababeera mu Safiri, nga muli bwereere, era nga mukwatibbwa ensonyi; mmwe ababeera mu Zanani temuvaayo, ebiwoobe ebya Beswezeeri, birikuggyako ekifo kyabyo eky'okuyimiriramu. Kubanga abo ababeera mu Malosi balindirira n'okwesunga ebirungi; kubanga akabi kasse, nga kava eri Mukama, ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi. Musibe amagaali ku mbalaasi ezisinga embiro, mmwe ababeera mu Lakisi, mmwe mwali entandikwa ye kibi eri omuwala wa Sayuuni, kubanga mu ggwe, mu ggwe mwe mwalabikira okwonoona kwa Isiraeri. Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, n'ennyumba za Akuzibu ziriba eky'obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri. Ndireeta gyoli alikuwamba mmwe ababeera mu Malesa, ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka ne ku Adulamu. Mwefuule ab'ekiwalaata, mwemweko enviiri, olw'okukungubagira abaana bammwe ababasanyusa; mwefuule ab'ebiwalaata ng'empungu; kubanga abaana bo balitwalibwa mu buwaŋŋanguse. Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku buliri bwabwe! Obudde bwe bukya bongera okubukola, kubanga obuyinza obw'okubukola buli mu mikono gyabwe. N'abo beegomba ennimiro, ne bazinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n'ennyumba ye, era omuntu n'obusika bwe. Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggya mu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga ebiro ebyo biriba bibi. Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange, ng'agunzigyako! Agabira abajeemu ennimiro zaffe. Kyoliva olema okubeera n'omuntu alisuula omuguwa ng'akuba akalulu, mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. “Temubuuliranga bwe mutyo, bwe batyo si bwe babuulirira; tewabanga abuulira bwatyo nti, tetugenda kuswazibwa.” Kiryogerwa, ggwe ennyumba ya Yakobo nti, Omwoyo gwa Mukama tegukyagumiikiriza? Bino bye bikolwa bye? Ebigambo bye tebikola bulungi oyo atambula n'obugolokofu? Naye musitukidde ku bantu bange ng'abalabe; abo abatayagala kulwana, muggyako ebyambalo abo abali emirembe, n'okuva kw'abo ababayitako mu bwesigwa nga teebagaala kulwana. Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; abaana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna. Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'obutali bulongoofu obuzikiriza n'okuzikiriza okutenkanika. Singa omuntu atambulatambula era n'agenda ayogera eby'obulimba nti, “Nja kukubuulira ku mwenge n'ebitamiiza eby'amaanyi,” oyo ye aliba omubuulizi ow'abantu bano! Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mmwe mwenna Ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya Abaisiraeri abaasigalawo; ndibateeka wamu ng'endiga eziri mu kisibo; ng'ekisibo ekiri mu ddundiro lyakyo, ekibiina ky'abantu abayoogaana. Oyo abatemera ekkubo alibakulemberamu; baliwaguza ne bayita ku luggi olwa wankaaki, era balifulumira omwo. Kabaka waabwe alibayitako n'abakulemberamu, Mukama yennyini ali mu maaso gaabwe. Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri! Si mmwe mwandibadde mumanya obwenkanya? Mmwe abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; abaggya olususu ku mubiri gw'abantu bange, era n'ennyama okuva ku magumba gaabwe; abalya ennyama ey'abantu bange; ne mubaggyako olususu, era mumenya amagumba gaabwe mu bitundutundu, ne mugatematema ng'ennyama eri mu ssepiki, era ng'ennyama ey'omu ntamu. Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tabaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, kubanga baafula ebikolwa byabwe ebibi. Bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku bannabbi abaakyamya abantu bange; era aboogerera waggulu nti, “Mirembe;” buli lwe baba n'eky'okulya, naye balangirira olutalo ku buli agaana okuteeka emmere mu mimwa gyabwe. N'olwekyo kiriba kiro gye muli, awatali kwolesebwa; era kizikiza gye muli, awatali kutegeezebwa Katonda by'agamba. Enjuba erigwa ku bannabbi abo, era obudde obw'emisana bulibaddugalira. Abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali kuddamu kuva ewa Katonda. Naye nze, nzijjudde amaanyi, n'omwoyo gwa Mukama, era n'obwenkanya n'obuzira, naangirire eri Yakobo okwonoona kwe era ne Isiraeri ebibi bye. Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, mmwe abakyawa obwenkanya, era abakyusa okwenkanankana, abazimba Sayuuni ku kuyiwa omusaayi, ne Yerusaalemi ku bukyamu. Abakulu baakyo basala omusango, nga bafunye enguzi, ne bakabona baakyo bayigiriza nga bamaze kupangisibwa, ne bannabbi baakyo boogera ebya Katonda nga bamaze kuweebwa ssente; so nga beesigama ku Mukama ne boogera nti, “Mukama tali wakati waffe? Tewali kabi kalitutuukako.” N'olwekyo olw'okubeera mmwe Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng'ennimiro; Yerusaalemi kirifuuka ntuumu ya bifunfugu. Olusozi okuli ennyumba ya Mukama lulimerako ekibira. Naye olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinnywezebwa ng'olusinga ensozi zonna obuwanvu, era luliyimusibwa okusinga obusozi bwonna; era abantu baliluddukirako. Era amawanga mangi agalijja, ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; alyoke atuyigirize amakubo ge, naffe tulitambulira mu go.” Kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka, n'ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi. Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi, n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate. Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama ow'eggye ke kakyogedde. Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe. Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, nditeeka wamu abawenyera, era ndikuŋŋaanya abo abagobebwa n'abo be nnalabisa ennaku; era abawenyera ndibafuula ekitundu ekyasigalawo, n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna. Era naawe, ggwe omunaala ogw'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, gyoli gyalidda, weewaawo okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka buliddira omuwala wa Yerusaalemi. Lwaki okaaba nnyo? Tewali kabaka gyoli? Akuwa amagezi azikiridde, obubalagaze ne bukukwata ng'omukazi alumwa okuzaala? Lumwa, era sinda, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babbulooni. Eyo gy'olirokokera; era eyo Mukama gy'alikununulira mu mukono gw'abalabe bo. Ne kaakano amawanga mangi agakuŋŋaana okulwana naawe, agoogera nti, “Ayonooneke, era amaaso gaffe gatunuulire ebyo bye gaagala okulaba nga bituuka ku Sayuuni!” Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga abakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano, alyoke abakubire mu gguuliro lye. Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna. “Kaakano ozingiziddwa n'ekisenge; tuzingiziddwa, n'omuggo bakubye ettama ly'omufuzi wa Isiraeri.” Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omutono mu bika byonna ebya Yuda, mu ggwe mwe muliva aliba gye ndi omufuzi mu Isiraeri; ensibuko ye ya dda na dda, emirembe nga teginnabawo. Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro oyo alumwa okuzaala lw'alizaala; kale baganda be abasigalawo balikomawo eri bannaabwe abaana ba Isiraeri. Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, ne mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era abantu be balibeererawo mu ddembe; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero zonna ez'ensi. Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu ensi y'ewaffe, bw'alitambulira ku ttaka lyaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu (7), n'abakungu munaana (8) ab'ekitiibwa. Nabo balifuga ensi ya Asuli n'ekitala, era ensi ya Nimuloodi n'ekitala ekisowoddwa; era balitulokola eri Omwasuli bw'aliba atuuse mu nsi y'ewaffe, era bw'alitambulira mu nsalo z'ewaffe. Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, era ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo. Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma bw'ebeera mu nsolo ez'omu kibira, oba ng'empologoma ento bw'ebeera mu bisibo by'endiga; bw'eziyitamu, n'ezirinnyirira era n'ezitaagulataagula, so tewali azirokola. Omukono gwo guliyimusibwa eri abalabe bo; n'abakukyawa bonna balizikirira. Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndiggya wakati wo embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go; era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna; era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na balaguzi nate. Ndizikiriza ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo. Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo. Era mu busungu n'ekiruyi ndiwalana eggwanga ku mawanga agaatagonda. Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera nti, “Yimuka, woza ensonga zo mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo. Muwulire, mmwe ensozi, obutategeragana obuliwo ne Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera, kubanga Mukama alina obutategeragana n'abantu be, era aliwoza ne Isiraeri.” “Mmwe abantu bange, mbakoze ki? Nali mbakooyezza naki? Munziremu! Kubanga nnakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne ntuma Musa ne Alooni ne Miryamu, okubakulembera. Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.” “Najja naki eri Mukama, ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? Mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamala omwaka ogumu? Mukama alisiima endiga eza sseddume enkumi, oba amafuta agakulukuta ng'emigga? Mpeeyo omwana wange omubereberye olw'okwonoona kwange, oba mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ekibi eky'omu mmeeme yange?” Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukolanga eby'obwenkanya, n'okwagalanga, n'ekisa, era n'okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo? Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, era kya magezi agatuukiridde okutya erinnya lyo, “Wulira ggwe ekika era abali awamu ab'ekibuga!” Nnyinza okwerabira ebintu eby'omuwendo eby'obubi, ebikyali mu nnyumba y'omubi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo? Nnyinza ntya okusonyiwa omuntu akozesa minzaani ey'obubi, n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba? Abagagga baakyo bakambwe, n'abo ababeera mu kyo boogedde eby'obulimba, n'olulimi lwabwe lwa bulimba mu kamwa kaabwe. Nange kyenvudde nkufumita ekiwundu ekinene; era nkuzisizza olw'ebibi byo. Olirya, so tolikkuta; era olisigala okyalumwa enjala; olijjulula naye tolitwala mirembe, era kyolitwala ndikiwaayo eri ekitala. Olisiga, naye tolikungula; olisogola emizeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola emizabbibu, naye tolinywa ku mwenge. Kubanga mukuumye ebyalagirwa Omuli, era n'ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufuule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo, mulibeera eky'okuduulirwa; nammwe mulibeerako ebivume by'abantu bange. Zinsanze! Kubanga nfaanana nga bwe bamala okukuŋŋaanya ebibala eby'omu kyeya, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku, tewakyali kirimba eky'okulya; tewali ttiini eryengedde emmeeme yange lye yeegomba. Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu; bonna bateega, okuyiwa omusaayi, buli muntu ayigga muganda we n'ekitimba. Emikono gyabwe ginyikira okukola obubi. Omulangira n'omulamuzi baagala okuweebwa enguzi; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu meeme ye, bwe batyo bwe babirukira awamu. Asinga obulungi ku bo, afaanana ng'omweramannyo, asinga okuba omugolokofu ku bo lukomera olw'amaggwa, olunaku olw'abakuumi baabwe, olw'okubonerezebwako lutuuse, kaakano okutabukatabuka kwabwe kutuuse. Temwesiga muliraanwa wammwe, tobeera na bwesige eri ow'omukwano; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo. Kubanga omwana ow'obulenzi tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; abalabe b'omuntu baba ba mu nnyumba ye. Naye nze nnaatunuuliranga Mukama; nnaalindiriranga Katonda ow'obulokozi bwange; Katonda wange anaampuliranga. Tosanyuka ggwe omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi. Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango, alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe. Kale omulabe wange, alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyaŋŋamba nti, “Mukama Katonda wo ali ludda wa?” Amaaso gange galimulabako, kaakano alirinnyirirwa ng'ebitoomi eby'omu nguudo. Olunaku olw'okuzimba ebisenge byo! Ku lunaku olwo, ensalo zo zirigaziyizibwa. Ku lunaku luli, baliva mu Bwasuli okutuuka e Misiri, era baliva e Misiri okutuuka ku Mugga, okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi. Naye ensi eriba kifulukwa, ku lw'abo abagibeeramu, olw'ebibala eby'ebikolwa byabwe. Liisa abantu bo, n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri, baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda. Nga bwe nnakola mu nnaku bwe wava mu nsi ya Misiri, ndimwolesa eby'ekitalo. Amawanga galiraba, galikwatibwa ensonyi n'amaanyi gaabwe gonna, baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, era amatu gaabwe galiziba. Balikomba enfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva mu bwekwekero bwabwe nga bakankana, mu kutya balikyukira Mukama Katonda waffe, era balitekemuka ku lulwo. Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, n'ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? Talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okwagala okwanamaddala. Alikyuka alitusaasira; alirinyirira okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byaffe byonna mu buziba bw'ennyanja. Oliraga Yakobo obwesigwa, n'okwagala okwanamaddala eri Ibulayimu, nga bwe walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda. Obubaka obukwata ku Nineeve. Ekitabo omuli okwolesebwa kwa Nakkumu, Omwerukoosi. Mukama ye Katonda w'obuggya, era awalana eggwanga. Mukama awooleera eggwanga, era wa busungu bungi nnyo. Abonereza abo abamukyawa era abasibira ekiruyi. Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi, era tayinza n'akatono butabonereza oyo azzizza omusango. Ekkubo lya Mukama lyayitamu liri mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ye nfuufu ebigere bye gye bisitula, alagira ennyanja n'ekalira, era n'emigga gyonna agikaza. Ennimiro ze Basani ne Kalumeeri zibabuse, n'ebimuli by'oku Lebanooni biwotose. Mu maaso ga Mukama ensozi zikankana, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika. Ensi yonna n'abagiriko ne bizikirizibwa. Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng'asunguwadde? Ani ayinza okugumira obusungu bwe ng'aswakidde? Obukambwe bwe bubuubuuka ng'omuliro, n'enjazi zaatikayatika olw'obusungu bwe. Mukama mulungi, kigo ky'abamwesiga ku lunaku olw'okulabirako ennaku, alabirira abo abamwesiga. Naye alisaanyizaawo ddala abamukyawa n'omujjuzo gw'amazzi, era abalabe be alibagobera mu kizikiza. Kiki kye muteesa okukola ku Mukama? Ajja kubazikiririza ddala! Tewali ayinza kumuwakanya mirundi ebiri, newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era ng'abanywi b'omwenge abatamidde, balyokerwa ddala ng'ekisambu ekikaze. Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu alina endowooza embi, ateesa okukola akabi ku Mukama. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Newakubadde nga balina amaanyi mangi, ate nga bangi, balizikirira baggweerewo ddala. Newakubadde nga nnababonyaabonya mmwe, naye sikyababonyaabonya nate. Kaakano nja kumenya ekikoligo ky'Abasuuli kibaveeko, era n'ebibasibye nnabikutulakutula.” Bino Mukama byalagidde ebikwata ku Nineeve, “Temulifuna bazzukulu balituumibwa mannya gammwe. Ndizikiriza ebifaananyi ebyole n'ebisaanuuse ebiri mu nnyumba ya bakatonda bo. Ndibasimira entaana kuba muyitiridde obugwagwa.” Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba omubaka ajja abuulirira ebigambo ebirungi, alangirira emirembe! Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga ababi tebakyaddamu kubalumba mmwe, bazikiririziddwa ddala. Nineeve, olumbiddwa, ow'okukusaanyawo atuuse, kuuma ekigo kyo, tunuulira ekkubo, weesibe wenyweze, funvubira n'amaanyi go gonna. Mukama anaatera okuzzaawo ekitiibwa kya Yakobo, kye kitiibwa kya Isiraeri, abaabazinda kye baali bafeebezza, n'emizabbibu gye bayonoona. Abasajja be abazira bakutte engabo emmyufu, abasserikale be bambadde ebyambalo ebitwakaavu. Amagaali gaabwe ag'ebyuma gaakaayakana ng'omuliro, era n'amafumu gagalulwa n'entiisa. Amagaali g'abalwanyi getawulira mu nguudo z'ekibuga, galabika ng'emimuli egyaka, gamyansa ng'eggulu. Abaduumizi bayitibwa, ne bajja nga batomeragana butomeraganyi. Abalumbi banguwa okutuuka ku bbugwe ow'ekigo, ne bategeka okukiggunda. Enzigi ez'oku migga zigguddwawo, amazzi ne gasaanyawo olubiri. Nnaabakyala n'anyagibwa, n'atwalibwa nga musibe. Abazaana be ne bakaaba ng'amayiba, nga bwe beekuba mu bifuba byabwe olw'okunakuwala. Abo mu Nineeve bafaanana ng'ekidiba ky'amazzi agakulukuta. Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!” Tewali atunula mabega. Munyage ffeeza, munyage zaabu, eby'obugagga tebiriiko kkomo. Ekibuga kijjudde ebintu, buli kirungi kiri omwo! Nineeve kisaanyiziddwawo, abantu baamu bonna emitima gibeewanise, amaviivi gabakubagana, n'ebiwato bibakankana, era basiiwuse ne mu maaso olw'entiisa. Ekibuga kiri ludda wa ekyali eky'ekitiibwa ng'empuku y'empologoma, empologoma ento mwe zaaliiranga, era mwe zaasigalanga awatali azitiisa, ng'empologoma enkulu ensajja n'enkazi zitambudde? Nineeve yali mpologoma ensajja, buli kye yattanga n'ekitaagula obulere, n'ekireetera ento ezo, era n'enkazi zaayo, n'ejjuza empuku yaayo, ensolo ezitaaguddwa. Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Ndi mulabe wo, ndyokya amagaali go ne ganyooka omukka, era abasserikale bo balizikirizibwa n'ekitala, nditwala byonna bye wanyaga. Eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.” Zikisanze ekibuga ekitemu, ekijjudde obulimba, era ekikubyeko ebintu ebinyage, obunyazi bwakyo tebukoma. Wulira enkoba eziwuuma, ezikuba embalaasi ze bagoba, nga zigenda ziguluba. Wulira zinnamuziga eziyiringita, n'amagaali agabuukabuuka. Abeebagadde embalaasi beetegese okulwana, nga bakutte ebitala ebimasamasa, n'amafumu agamyansa. Abafudde bangi, emirambo mingi nnyo, badduka kwe beekoona! Nineeve kibonerezebwa olw'obwenzi bwakyo, ekyajjula obulogo obuyitirivu, eky'afuga amawanga n'eby'obwenzi bwakyo. Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Ndi mulabe wo ggwe Nineeve, ndikwambula osigale bwereere amawanga gakulabe gakusunge. Obwakabaka bwo bulinyoomebwa mu maaso gaabwe. Era ndikufuula ekyenyinyalwa, era ndikwambula ekitiibwa kyo, era ndikuleka okuba ekyerolerwa. Awo olulituuka bonna abalikutunulako balikwesamba ne bagamba nti, Nineeve kifuuse matongo! Ani anaakikungubagira? Abalikikubagiza baliva wa? Nineeve ggwe osinga Nowamoni, ekibuga ky'e Misiri obulungi? Ekyazimbibwa okumpi n'Omugga Kiyira, nga kyetooloddwa amazzi amangi ku enjuyi zonna. Olukomera lwa kyo teyali nnyanja, era amazzi si ge gaali bbugwe waakyo? Amaanyi gaakyo gaakiri mu Esiyopiya ne Misiri, abe Puti n'ab'e Libya nabo baakiyambanga. Naye era kyatwalibwa, ky'agenda mu buddu; n'abaana baakyo abato batirimbulirwa mu masaŋŋanzira g'enguudo zaakyo. Ab'ebitiibwa n'abakulu baakyo bonna baasibibwa ku njegere, ne bagabanibwa abalabe nga bakubirwa akalulu. Naawe Nineeve olitagatta ng'omutamiivu, oliggwaamu amaanyi. Naawe olinoonya wewekwekera abalabe bo. Ebigo byo byonna biriba ng'emiti emitiini okuli ebibala ebisooka okwengera, bwe ginyeenyezebwa ebibala bikunkumuka, ababyagala ne babirya. Laba, abasserikale bo baliba nga abakazi, tewaliba bataasa nsi yo. Enzigi eza wankaaki ez'ensi yo nziggule eri abalabe bo, n'omuliro gulisaanyawo emikiikiro gy'enzigi zo. Weekimire amazzi, weetegekere okuzingizibwa. Nyweza ebigo byo, samba ebbumba obumbe amatoffaali, ogapange mu kyokero. Tokyalina kya kukola, omuliro gulikwokera eyo, ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera mweyongere obungi ng'enzige, mwale nga kalusejjera. Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, naye kati babuuse ng'enzige ne bagenda. Abakulembeze bo bali ng'enseenene, n'abaduumira eggye lyo bali ng'ebibinja by'enzige ebyekukuma mu bisagazi mu budde obunnyogovu, naye enjuba bw'evaayo zibuuka ne zigenda etemanyiddwa. Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli. abakungu bo ab'ekitiibwa bafudde, abantu bo basaasaanidde ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya. Tewali kya kukkakkanya bulumi bw'owulira, ekiwundu kyo si kya kuwona. Bonna abawulira ebikutuuseeko bakuba bukubi mu ngalo nga basanyuka, kubanga obukambwe bwo tebuliiko gwe bwataliza ennaku zonna. Omugugu nnabbi Kaabakuuku gwe yalaba. Ayi Mukama, ndituusa wa okukaaba naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira nti, “obukambwe!” Naye ggwe tokkiriza kutulokola. Lwaki ondeka okulaba ebikyamu, era n'okutunulira emitawaana? Okuzikiriza n'obukambwe biri mu maaso gange; era waliwo empaka, n'okuyomba. Amateeka kyegavudde gaddirira, ne wataba kugoba mazima n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu; kwe kulaba nga n'amazima ganyooleddwa. Mutunule mu mawanga, mulabe; mwewuunye era mutye, kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa. Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri ne batambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, nga banyaga ebintu by'abalala n'okutwala ennyumba ezitali zaabwe. Ba ntiisa, bazibu, amazima gaabwe n'ekitiibwa biva mu bo bennyini. Embalaasi zaabwe zisinga engo embiro, era nkambwe okusinga emisege egy'ekiro, n'abasajja baabwe abeebagala embalaasi beeyagala, weewaawo, abasajja baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'empungu eyanguyira eky'okulya. Bonna bajja lwa bukambwe; entiisa yaabwe ebakulemberamu; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu. Weewaawo, basekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gyebali; baasekerera buli kigo, kubanga batuuma enfuufu ne bakimenya. Awo bayita nga bawulukuka ng'embuyaga era ne bagenda, abasajja abasingiddwa omusango, amaanyi gaabwe ye katonda waabwe. Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ayi Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama, wamuteekerawo musango, naawe ayi Olwazi wamunywereza kubuulirira. Ggwe alina amaaso amalongoofu ennyo agatayinza kutunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi ng'amira omuntu amusinga obutuukirivu? Kubanga abantu obafuula ng'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga. Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye; kyava asanyuka n'ajaguza. Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye ngagga. Kale alibeera buli kiseera nga afukumula omuya gwe, era awatali kusaasira n'atta amawanga emirembe gyonna? Nditwala oluwalo lwange, ne nnyimirira we nkuumira ne nneeteka ku munaala, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era ne bye n'addamu ebikwata ku by'okwemulugunya kwange. Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo okwole bulungi ku bipande,” alyoke adduke mbiro oyo abisoma. Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, tekulirimba, bwe kuba nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo. Laba oyo emmeeme ye nga si ngolokofu, aliremererwa, naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe. “Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, omusajja owa malala tayinza kuyimirira. Omululu gwe mugazi nga amagombe, ng'okufa, takkutanga, yekuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, era ateeka wamu abantu bonna nga ababe.” Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti, “Zimusanze oyo eyeetuumako ebyo ebitali bibye! Alituusa wa? Era eyeebinika emisingo!” Tebalisituka abakubanja nga totegedde, tebalizuukuka abalikweralikiriza? Naawe olibeera munyago gwabwe. Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga ago naawe balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'obukambwe bwe wakola ku nsi, n'ekibuga ne bonna abakibeeramu. Zimusanze oyo afuna ennyumba ye ku magoba amabi, azimba ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubi! Oleteedde ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe. Kubanga ejjinja liryogerera waggulu nga linsinzira mu kisenge, n'omuti guliriddamu nga gusinziira mu misekese. Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, era atandika ekibuga ku butali butuukirivu! Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okwekooyeeseza obwereere? Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja. Zimusanze oyo awa baliraanwa be eby'okunywa ku kikompe eky'obukambwe, n'abatamiiza alyoke atunuulire ensonyi zaabwe! Ojjudde ensonyi mu kifo ky'ekitiibwa, nywa era otagatte! ekikompe ekiri mu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa gyoli, n'ensonyi zirisaanikira ekitiibwa kyo! Kubanga obukambwe obw'akolebwa ku Lebanooni bulikusuukirirako, n'okuzikirira kw'ensolo ku likutiisa, olw'omusaayi gw'abantu n'obukambwe eby'akolebwa ku nsi n'ebibuga ne bonna ababituulamu. Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Omukozi waakyo n'okwola n'akyola, ekifaananyi ekisaanuuse, n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki? Kubanga omukozi w'omulimu yeesiga ekyo ky'akoze, bw'akola ebifaananyi ebitayogera! Zimusanze oyo agamba ekintu eky'omuti nti, “Zuukuka!” Era agamba ejjinja eritayogera nti, “Golokoka!” Kino kiyinza okuvaako okubikkulirwa? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, naye tekirimu mukka gwa bulamu mu kyo. Naye Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; ensi zonna zisirike mu maaso ge. Okusaba kwa Kaabakuuku nnabbi, okw'Ekisigiyonosi. Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo n'entya; Ayi Mukama, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka, Gumanyise wakati mu myaka; Awali obusungu, jjukira okusaasira. Katonda yajja ng'ava e Temani, Era Omutukuvu yajja ng'ava ku lusozi Palani, Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu, era ensi n'ejjula ettendo lye. Seera N'okumasamasa kwe kwali ng'ekitangaala; Okumyansa kwava mu mukono gwe, Era omwo mwe yakweka amaanyi ge. Okuzikirira kwamukulemberamu, kawumpuli n'amuvaako emabega. Yayimirira n'agera ensi; Yatunula n'ayugumya amawanga Ensozi ez'olubeerera ne zisaasaana, Obusozi obutaggwaawo ne bukutama; Okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga edda. Nnalaba eweema za Kusani nga ziri mu nnaku; Amagigi ag'ensi ya Midiyaani ne gakankana. Mukama yanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku migga, Oba ekiruyi kyo kyali ku nnyanja, N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo, N'olinnya ku magaali go ag'obulokozi? Omutego gwo gwasowolerwa ddala; Ebirayiro bye walayirira ebika byali bigambo bya nkalakkalira. (Seera) Ensi wagyasaamu n'emigga. Ensozi zaakulaba ne zitya; Amataba ag'amazzi ne gayitawo, Ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, N'esitula amayengo gaayo waggulu. Enjuba n'omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera; Olw'ekitangaala ky'obusaale bwo ne bidduka, Olw'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa. Watambula okuyita mu nsi ng'oliko ekiruyi, N'olinyirira amawanga mu busungu. Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta; Wabetenta omutwe gw'omubi, N'asigala bwereere okuva ku bisambi okutuuka ku nsingo (Seera). Wafumita n'amafumu omutwe gw'abalwanyi be; Bajja ng'embuyaga ez'akazimu okunsaasaanya, Okusanyuka nga agenda okulya omwavu mu kyama. Walinnyirira ennyanja n'embalaasi zo, Entuumu ey'amazzi ag'amaanyi. Mpulira, era omubiri gwange gukankana, Emimwa gyange ne gijugumira olw'eddoboozi; Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange, Nja kulinda mu kasirise olunaku olw'okulabiramu ennaku, Bwe zirijja eri abantu abatutabaala. Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya, So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala; Emizeyituuni ne bwe gifa, era nga bateganira bwereere, Ennimiro ne bwezitaleeta mmere yonna; Embuzi nga zimaliddwawo mu kisibo, So nga tewali na nte mu biraalo, Era naye ndisanyukira Mukama, ndijaguliza Katonda ow'obulokozi bwange Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange, Naye afuula ebigere byange okuba ng'eby'empeewo, Era alintambuliza ku bifo ebigulumivu. Ya mukulu w'Abayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba. Buno bwe bubaka, Mukama bwe yawa Zeffaniya, mutabani wa Kuusi, mutabani wa Gedaliya, mutabani wa Amaliya, mutabani wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda. Bwati bw'ayogera Mukama nti, “Ndizikiririza ddala ebintu byonna okuva ku nsi, abantu bonna n'ensolo, n'ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebyennyanja wamu n'abakola ebibi bonna. Ndizikiririza ddala abantu obutalekaawo n'omu. Nze Mukama nze njogedde.” “Ndibonereza ab'omu Yuda, n'ab'omu Yerusaalemi bonna. Ndizikiriza abasinza Baali abakyasigaddewo mu kifo ekyo era tewalibaawo ajjukira bakabona be. Era ndizikiriza n'abo abalinnya waggulu ku nnyumba ne basinziza enjuba n'omwezi n'emmunyeenye. Ndizikiriza n'abo abasinza Mukama, ate era ne balayira ne katonda Malukamu. Ndizikiriza n'abo abazze emabega obutagoberera Mukama, abatakyanoonyanga Mukama newakubadde okumwebuuzako.” Sirika awali Mukama Katonda: kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi: kubanga Mukama ategese ssaddaaka, atukuzizza abagenyi be. Awo ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama, “ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka n'abo bonna abambadde ebyambalo binnaggwanga. Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango ne basinza, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe eby'obukambwe n'obulimba.” Bwati bw'ayogera Mukama nti, “ku lunaku luli, walibaawo okukaaba ku mulyango ogw'Ebyennyanja ogw'omu Yerusaalemi, n'okutema emiranga mu kitundu ekiggya eky'ekibuga, n'okubwatuuka okw'amaanyi okuva ku busozi. Mwekabire ko, mmwe abali mu kitundu ekya wansinsi eky'ekibuga, kubanga abasuubuzi bammwe bonna zibasanze, n'abo abeebinikanga ffeeza bazikiridde. Awo olulituuka mu biro ebyo ndikwata ettaala ne nfuuza Yerusaalemi, era ndibonereza abantu abalowooza nti bali bulungi, abatalina kye beeraliikirira, era abalowooza nti, ‘Mukama taliiko ky'akola, ka kibe kirungi oba kibi.’ Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n'ennyumba zaabwe zirifuuka matongo. Weewaawo, balizimba amayumba naye tebaligasulamu, era balisimba ensuku ez'emizabbibu naye tebalinywa ku mwenge gwamu.” Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi, ddala lusembedde, era lwanguwa mangu. Olunaku luliba lwa kubonaabona! n'omulwanyi omuzira alikaaba olw'obuyinike obungi. Olunaku olwo luliba lunaku lwa busungu, lwa buyinike n'okulaba ennaku, lunaku lwa kuzikirira na kuggwaawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lunaku lwa bire n'ekizikiza ekikutte! Lunaku lwa kufuuwa kkondeere n'okulangirira olutalo ku bibuga ebiriko enkomera n'eri eminaala emigulumivu. Ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abazibe b'amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'emirambo gyabwe girisuulibwa ng'obusa. Ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama, effeeza ne zaabu waabwe tebiriyinza kubawonya. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro ogw'obusungu bwe, kubanga alimalirawo ddala n'entiisa abo bonna abali mu nsi. Mukuŋŋaane, mukuŋŋaane, ayi eggwanga eritalina nsonyi, nga temunnasaasaanyizibwa ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga, era n'ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, ku lunaku olw'obusungu bwe. Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab'omu nsi, abakola by'ayagala. munoonye obutuukirivu, era mwetoowaze, mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama. Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kirisigala matongo. Abantu b'omu Asudodi baligobwamu mu ttuntu, ne Ekuloni kirisaanyizibwawo. Zibasanze abo abali ku lubalama lw'ennyanja, amawanga ag'Abakeresi! Mukama akusalidde omusango ggwe Kanani, ensi ey'Abafirisuuti: alikuzikiriza n'otosigalamu muntu! N'olubalama lw'ennyanja luliba malundiro, nga mulimu ensiisira ez'abasumba n'ebisibo eby'embuzi. Era olubalama lw'ennyanja luliba lwa kitundu ky'ennyumba ya Yuda abaliwonawo, banaalundiranga eyo era balisula mu mayumba ag'omu Asukulooni kubanga Mukama Katonda waabwe alibeera wamu nabo, era alibaddizaawo obugagga bwabwe. “Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n'okuyomba kw'abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange, era nga beewaana nga bwe bajja okutwala ensi yaabwe. Kale, nga bwe ndi omulamu,” bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, “ Mazima Mowaabu aliba nga Sodomu, n'ab'Amoni nga Ggomola: ebifo omufungamye omwennyango, n'ebinnya omusimwa omunnyo, era amatongo agatalivaawo. Mulinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo, n'ekitundu ky'eggwanga lyange ekirisigalawo kirisikira ensi yammwe.” Eyo y'eriba empeera yaabwe olw'amalala gaabwe, kubanga bavumye era ne beekulumbaliza ku abantu ba Mukama w'eggye. Mukama aliba wa ntiisa gyebali, bwalitoowaza bakatonda bonna ab'ensi zonna. Kale abantu bonna balimusinza, buli muntu asinziira mu nsi ye ye. Nammwe Abaesiyopya, mulittibwa n'ekitala kyange. Mukama alikozesa obuyinza bwe n'azikiriza Obwasuli. Alifuula Nineeve amatongo era okuba ekikalu ng'eddungu. Kirifuuka ekifo omunaagalamiranga amagana, n'ebisolo byonna ebya buli ngeri. Ebiwuugulu binaasulanga mu bifulukwa byakyo, biwuugulirenga mu madirisa. Emiryango girimenyebwamenyebwa, n'enjola ez'emivule ziryerulwa. Ebyo bye birituuka ku kibuga ekyenyumirizanga olw'obuyinza bwakyo, ne kirowooza nti tekirituukibwako kabi. Kyewaananga nti, “Nze tewali annenkana!” Naye kilifuuka matongo, ekifo ensolo we ziwummulira! buli muntu anaakiyitangako anaasoozanga n'afunya ebikonde, n'anyeenya emikono gye. Zikisanze ekibuga Yerusaalemi, ekijeemu era ekyonoonefu, ekibonyaabonya abantu baakyo. Tekigondera ddoboozi, wadde okukkiriza okubuulirirwa; tekyesiga Mukama wadde okusemberera Katonda waakyo. Abakungu baamu bali ng'empologoma eziwuluguma; abalamuzi baamu balinga emisege egy'ekiro, bakirimululu abatafissaawo kantu. Bannabbi baamu baggwaamu ensa, era ba nkwe. Bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, era bafuulafuula amateeka ga Katonda okufuna bye baagala. Naye Mukama akyali mu kibuga ekyo, akola ebituufu, so takola bitali bya butuukirivu. Buli nkya, awatali kwosa, alaga nga bw'ali omwenkanya. Naye abantu ababi tebakwatibwa nsonyi, bongera kukola bibi! Mukama agamba nti, “Nsaanyizzaawo amawanga, ebigo byago ebigumu bisuuliddwa ku ttaka. Nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba aziyitamu. Ebibuga byabwe bifuuse matongo, tewakyali babibeeramu. N'ayogera eri ekibuga nti, ‘Mazima onoontya, onookkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo.’ Naye bo beeyongera bweyongezi okukola ebikolwa ebibi.” “Kale munnindirire,” bw'ayogera Mukama, “okutuusa ku lunaku lwe ndiyimirira ng'omujulizi, kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, n'obwakabaka, mbamalireko essungu n'ekiruyi kyange kyonna. Ensi yonna omuliro ogw'obuggya bwange guligisaanyawo.” “Mu biro ebyo ndikyusa emitima gy'abantu ab'omu mawanga, bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, balimuweereza n'omutima gumu. Abalinneegayirira be bantu bange abaasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya. Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebikolwa byo byonna bye wansobya: kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'aba malala, so naawe toliddamu kunjeemera ku lusozi lwange olutukuvu. Naye ndireka wakati mu ggwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era abanneesiganga erinnya lya Mukama. Ekitundu kya Isiraeri ekirisigalawo tebalikola ebitali bya butuukirivu so tebalyogera by'abulimba, wadde okuba abakuusa. Balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa.” Yimba, ayi omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ayi Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ayi omuwala wa Yerusaalemi. Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya kabi konna nate. Ekiseera kijja kutuuka bagambe Yerusaalemi nti, “Totya ggwe Sayuuni, emikono gyo gireme okuddirira. Mukama Katonda wo ali naawe, ow'amaanyi yakuwa okuwangula. Alikusanyukira nnyo, aliddamu okukulaga okwagala kwe, alikwaniriza ng'ayimba nga musanyufu. Ng'abali ku mbaga bwe basanyuka, Mukama agamba nti, Nzigyeewo akabi akandikutuuseko, era nkuggyeeko obuswavu. Ekiseera kijja kutuuka mbonereze bonna abaakubonyaabonyanga. Ndinunula abalema, ne nkuŋŋaanya abo abasaanyizibwa; era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa mu nsi zonna gye baaswazibwa. Ekiseera kijja kutuuka mbakuŋŋaanye mmwe. mbakomyewo ewammwe. Ndibawa ekitiibwa n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi, bwe ndibaddizaawo ebirungi nga mulaba,” bw'ayogera Mukama. Mu mwaka ogwokubiri ogwa Daliyo kabaka w'e Buperusi, mu mwezi ogw'omukaaga, ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye, ekigambo kya Mukama ne kijja okuyita mu Kaggayi nnabbi, eri Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda n'eri Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nga kyogera nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Abantu bano boogera nti ekiseera tekinnatuuka okuzimba ennyumba ya Mukama.” Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri nnabbi Kaggayi nga kyogera nti, “Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikiddwako, ennyumba eno n'ebeererawo mu matongo?” Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “ Mulowooze amakubo gammwe. Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye temukkuta bye munywa; mwambala naye tewali abuguma; n'oyo afuna empeera agifuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka.” Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Mulowooze amakubo gammwe. Mulinnye ku lusozi, muleete emiti, muzimbe ennyumba; nange ndigisanyukira, era ndigulumizibwa,” bw'ayogera Mukama. “Mwasuubira bingi, kale laba ne biba bitono; era bwe mwabireeta eka, ne mbifuumuula. Lwaki?” Bw'ayogera Mukama w'eggye. “Ogw'ennyumba yange ebeererawo mu matongo, nammwe muddukira buli muntu mu nnyumba ye. Kale ku lwammwe eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n'ettaka liziyizibwa okubala ebibala byalyo. Ne mpita ekyanda okujja ku nsi, ne ku nsozi, ne ku ŋŋaano, ne ku mwenge ne ku mafuta, ne ku ebyo ettaka bye libala, ne ku bantu, ne ku nsolo ne ku mirimu gyonna egy'engalo.” Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu wamu n'abantu bonna abafisseewo, ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Kaggayi nnabbi nga Mukama Katonda waabwe bwe yamutuma; abantu ne batya mu maaso ga Mukama. Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n'agamba abantu ng'asinziira mu bubaka bwa Mukama nti, “ Nze ndi wamu nammwe,” bw'ayogera Mukama. Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda, n'omwoyo gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n'omwoyo gw'abantu bonna abaali bafisseewo, ne bajja ne bakola omulimu mu nnyumba ya Mukama w'eggye Katonda waabwe, Ku lunaku olw'omwezi olw'abiri mw'ennya, mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka ogwokubiri, ogwa Daliyo kabaka. Mu mwaka ogwokubiri ogwa Daliyo kabaka, mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'abiri mw'olumu, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Kaggayi nnabbi nga kyogera nti, “Gamba nno Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'abantu abafisseewo, obagambe nti, ‘Ani asigadde mu mmwe eyalaba ennyumba eno mu kitiibwa kyayo ekyasooka? Era mugiraba mutya kaakano? Temugiraba nga teriimu ka buntu mu maaso gammwe? Era naye kaakano beera n'amaanyi, ayi Zerubbaberi, bw'ayogera Mukama; era beera n'amaanyi, ayi Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubeere n'amaanyi, mmwe mwenna abantu ab'omu nsi, bw'ayogera Mukama, mukole omulimu, kubanga nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama w'eggye, ng'ekigambo bwe kiri kye nnalagaana nammwe bwe mwava mu Misiri. Omwoyo gwange gunnabeeranga mu mmwe; temutya. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti, Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye, eggulu n'ensi n'ennyanja n'olukalu. Ndikankanya amawanga gonna, n'ebyo eby'egombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye. Effeeza yange ne zaabu, yange, bw'ayogera Mukama ow'eggye. Ekitiibwa eky'ennyumba eno, eky'oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw'ayogera Mukama w'eggye; era mu kifo kino mwe ndiweera okukulakulana, bw'ayogera Mukama w'eggye. ’ ” Ku lunaku olw'abiri mw'ennya (24) olw'omwezi ogw'omwenda mu mwaka ogwokubiri, ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Kaggayi nnabbi nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Buuza nno bakabona baasalewo ku kibuuzo kino, Omuntu bw'asitulira ennyama entukuvu mu kirenge eky'ekyambalo kye, n'akoma ku mmere n'ekirenge kye oba mugoyo, oba mwenge, oba mafuta, oba mmere yonna, kyakomyeko kifuuka kitukuvu?” Bakabona ne baddamu ne boogera nti, “ Nedda.” Awo Kaggayi n'alyoka ayogera nti, “Omuntu atali mulongoofu olw'omulambo bw'aba ng'akomye ku kimu ku ebyo byonna, kiriba ekitali kirongoofu?” Bakabona ne baddamu ne boogera nti, “Kiriba ekitali kirongoofu.” Awo Kaggayi n'alyoka addamu n'ayogera nti, “Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw'ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu.” “Kale nno, mbeegayiridde, mulowooze okuva leero n'okudda emabega, ejjinja nga terinaba kuteekebwa ku jjinja mu Yeekaalu ya Mukama, byali bitya? Mu biro ebyo byonna omuntu bwe yajjanga eri entuumu y'eŋŋaano, ey'ebigera abiri (20) waabangawo kkumi (10) jjereere; omuntu bwe yajjanga eri essogolero okusena ebita ataano (50), nga mulimu abiri (20) meereere. N'abakuba n'okugengewala n'obukuku n'omuzira mu mulimu gwonna ogw'emikono gyammwe, era naye temwankyukira.” Bw'ayogera Mukama. “Mulowooze, mbeegayiridde okuva leero n'okudda emabega, okuva ku lunaku olw'abiri mu ennya olw'omwezi ogw'omwenda, okuva ku lunaku lwe baasimba omusingi gwa Yeekaalu ya Mukama, mukirowooze. Ensigo zikyali mu ggwanika? Weewaawo, omuzabbibu n'omutiini n'omukomamawanga n'omuzeyituuni teginnabala; okuva ku lunaku lwa leero, ndibawa omukisa.” Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw'abiri mw'ennya olw'omwezi nga kyogera nti, “Yogera ne Zerubbaberi owessaza lya Yuda omugambe nti, Nja kukankanya eggulu n'ensi; era ndisuula entebe ey'obwakabaka bungi, era ndizikiriza amaanyi ag'obwakabaka obw'amawanga; era ndisuula amagaali n'abo abagatambuliramu; n'embalaasi n'abo abazeebagala balikkakkanyizibwa buli muntu n'ekitala kya muganda we. Ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndikutwala ggwe, ayi Zerubbaberi omuddu wange, mutabani wa Seyalutyeri, bw'ayogera Mukama, ne nkufuula ng'akabonero, kubanga nkulonze gwe, bw'ayogera Mukama ow'eggye.” Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja gy'ali Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti, “Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe. Naye kaakano bagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mudde gye ndi, bw'ayogera Mukama w'eggye, nange ndidda gye muli, bw'ayogera Mukama. Temuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baakoowoolanga nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, ‘Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi,’ naye ne batampulira era ne batampuliriza. Bajjajjammwe bali ludda wa? Ne bannabbi baba balamu emirembe gyonna? Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? Ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola.” Olunaku olw'abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogwo bufuzi bwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti, “N'atunula ekiro; era, laba, omuntu nga yeebagadde embalaasi ya lukunyu, era ng'ayimiridde wakati w'emiti emikadasi egyali mu kiwonvu; n'emabega we embalaasi, eza lukunyu n'eza kikuusikuusi n'enjeru. Awo ne njogera nti, ‘Ayi mukama wange, ebyo biki?’ Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti, ‘Naakwolesa ebyo bwe biri.’ Omuntu eyali ayimiridde wakati w'emikadasi n'addamu n'ayogera nti, ‘Ebyo Mukama by'atumye okutambulatambula ku nsi.’ Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti, ‘Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde.’ Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti, ‘Ayi Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu (70)?’ Mukama n'addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo eby'essanyu. Malayika eyali ayogerera nange n'aŋŋamba nti, ‘Yogerera waggulu ng'ogamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi. N'obusungu obungi nsunguwalidde amawanga abawummula; kubanga nze nnanyiigako katono, bo ne bongera ku kubonaabona okwo.’ Mukama kyava ayogera bw'ati nti, ‘Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi.’ Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ” Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amayembe ana. Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “ Ago maki?” N'anziramu nti, “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi.” Mukama n'anjolesa abaweesi bana. Ne njogera nti, “ Abo bajja kukola ki?” N'ayogera nti, “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.” Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuntu ng'alina omugwa ogugera mu ngalo ze. Ne njogera nti, “Ogenda wa ggwe?” N'aŋŋamba nti, “ Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.” Era, laba, malayika eyali ayogera nange n'avaayo ne malayika omulala n'avaayo okumusisinkana n'amugamba nti, “Dduka, mugambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba kibuga ekitaliiko bbugwe olw'obungi bw'abantu n'ebisibo ebinaabeeramu. Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.’ ” Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiikakkono, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama. Kale, Sayuuni, dduka owone, ggwe atuula n'omuwala wa Babbulooni. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunye y'eriiso lye. “Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma. Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama. Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange; nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli. Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.” Musirike, abalina omubiri mwenna mu maaso ga Mukama; kubanga azuukuse mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera. N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we. Mukama n'agamba Setaani nti, “Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye, oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?” Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso ga malayika. N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti. “Mumwambulemu engoye ez'ekko.” N'agamba Yosuwa nti, “Laba, nkuggyeeko obubi bwo; nange nnaakwambaza ebyambalo eby'omuwendo.” Ne njogera nti, “ Bamusibe ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamusiba ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye;” malayika wa Mukama n'ayimirira awo. Malayika wa Mukama n'alabula nnyo Yosuwa, ng'ayogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkukuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano. Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go; kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange ayitibwa Ttabi. Kubanga, laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu. Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.” Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa ng'omuntu bw'azuukusibwa mu tulo twe. N'aŋŋamba nti, “Olabye ki?” Ne njogera nti, “Ndaba ekikondo eky'ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu waakyo kuliko akabakuli, n'ettaala zaakyo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo. Era waliwo n'emizeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw'akabakuli, n'omulala ku mukono gwakyo ogwa kkono.” Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange ne njogera nti, “Ebyo biki, mukama wange?” Malayika eyali ayogera nange n'addamu n'aŋŋamba nti, “Tomanyi ebyo bwe biri?” Ne muddamu nti, “Nedda, mukama wange.” N'addamu n'aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: nga kyogera nti, Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye. Ggwe olusozi olunene, weeyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi era alireeta ejjinja erya waggulu ne balirangirira nti ‘Liweebwe ekisa, liweebwe ekisa’” Nate ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti, “Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwe ennyumba eyo, era n'emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. Kubanga ye ani anyoomye olunaku olw'ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubbaberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; agayitaayita mu nsi zonna.” Ne ndyoka mubuuza nti, “ Emizeyituuni gino ebiri ku mukono ogwa ddyo ogw'ekikondo eky'ettaala ne ku mukono gwakyo ogwa kkono gitegeeza ki?” Ne nnyongera okumubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Amatabi gano abiri ag'emizeyituuni agali ku mabbali g'emimwa ebiri egya zaabu agayitamu amafuta aga zaabu gategeeza ki?” N'anziramu nti, “Tomanyi ago kye gategeeza?” Ne nziramu nti, “Nedda, mukama wange.” Awo n'addamu nti, “Ago be baana babiri abaafukibwako amafuta abayimirira awali Mukama w'ensi zonna.” Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga. N'aŋŋamba nti, “ Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti, “Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi (10).” N'aŋŋamba nti, “Ekyo kye kikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aliggibwawo era buli alayira eby'obulimba aliggibwawo bamulaze ku luuyi olulala. Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira obwereere erinnya lyange, era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.” Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti, “Kale yimusa amaaso go, olabe ekirala ekijja.” Nemubuuza nti, “Ekyo kiki?” N'anziramu nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.” Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky'essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng'akituddemu. N'aŋŋamba nti, “Ono bwe Bubi.” N'amusindika n'amuzzamu munda mu kisero, n'aggalawo omumwa gwakyo n'ekisaanikira eky'ekyuma eky'essasi. Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula ekisero mu bbanga ly'ensi n'eggulu. Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?” N'anziramu nti, “ Mu nsi ya Sinaali okumuzimbira ennyumba, nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye.” Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri, n'ensozi ezo zaali za bikomo. Eggaali esooka yali ng'esikibwa embalaasi za lukunyu, eyokubiri ng'esikibwa embalaasi enzirugavu, eggaali ey'okusatu ng'esikibwa embalaasi enjeru ne eggaali ey'okuna yali esikibwa embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru. Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “ Ebyo bitegeeza ki, Mukama wange?” Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti, “Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu, eziva okweyanjula mu maaso ga Mukama w'ensi zonna. Eggaali eri esikibwa embalaasi enzirugavu evuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiikakkono, ate eziva emabega waazo enjeru, n'ezo ezitobeseemu obwoya obweru zivaayo okugenda mu nsi ey'obukiikaddyo.” Eza kikuusikuusi zivaayo okugenda zitambuletambule mu nsi; n'azigamba nti, “ Mugende, mutambuletambule mu nsi.” Awo ne zitambulatambula mu nsi. Awo n'ankoowoola n'aŋŋamba nti, “Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiikakkono ziwummuza Omwoyo gwange nsi ey'obukiikakkono.” Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti, “Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babbulooni; era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu; omugambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba Yeekaalu ya Mukama; oyo ye alizimba Yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.’ ” N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu Yeekaalu ya Mukama. “ Era abaali ewala balijja balizimba mu Yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.” Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw'obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw'omwezi ogw'omwenda, oguyitibwa Kisuleevu. Awo abantu be Beseri baali batumye Salezeeri ne Legemumereki n'abantu baabwe okwegayirira ekisa kya Mukama, n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogw'okutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?” Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti, “Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti, Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu (70), mwali musiibira nze? Era bwe mulya ne bwe munywa, muba temulya ku lwammwe era temunywa ku lwammwe? Tekibagwanidde kuwulira bigambo Mukama bye yalangiriranga mu bannabbi ab'edda, Yerusaalemi bwe kyalimu abantu era nga kiri mirembe, n'ebyalo byakyo ebyali bikiriraanye enjuyi zonna, n'ensi ey'obukiikaddyo n'ensenyi nga bikyalimu abantu.” Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti, Musalenga emisango egy'ensonga, era buli muntu akwatirenga muganda we ekisa n'okusaasira; era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era mulemenga okubaawo omuntu yenna aloowoozanga obubi mu mitima gwe eri muntu munne” Naye ne bagaana okuwulira ne bankuba amabega gaabwe, ne baziba amatu gaabwe baleme okuwulira. Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa bannabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye. “ Bwe n'abakoowoola ne bagaana okuwulira, nange ne ŋŋaana okuwulira bwe bankoowoola,” bw'ayogera Mukama w'eggye, “naye n'abasaasaanya ng'omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Awo ensi gye baleka n'efuuka amatongo ensi eyeegombebwa.” Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi: nkikwatirwa obuggya n'ekiruyi ekingi. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Nkiddiddemu Sayuuni, nnaabeeranga wakati mu Yerusaalemi, era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abakadde, abasajja n'abakazi, balituula ate mu nguudo za Yerusaalemi, buli muntu ng'akutte omuggo mu mukono gwe kubanga akaddiye nnyo. N'enguudo ez'ekibuga zirijjula abalenzi n'abawala nga bazannyira mu nguudo zaakyo. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Kirirabika ng'eky'ekitalo mu maaso g'abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba? Bw'ayogera Mukama w'eggye. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, ndirokola abantu bange okuva mu nsi ey'ebuvanjuba n'okuva mu nsi ey'ebugwanjuba; ndibaggyayo, nabo banaabeeranga wakati mu Yerusaalemi; nabo banaabanga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu mazima ne mu butuukirivu.” Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “ Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw'ennyumba ya Mukama lwe gwasimbibwa, ye Yeekaalu, ezimbibwe. Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'oyo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne. Naye kaakano nze sirikola bwe ntyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kubanga wanaabanga ensigo ez'emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n'eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu eky'abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna. Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi.” Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti, “Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe bansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa; Bwe ntyo ate ndowoozezza mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n'ennyumba ya Yuda; temutya. Ebigambo bye munaakolanga bye bino; mubuuliraganenga eby'amazima buli muntu ne munne; musalenga emisango egy'ensonga n'emisango egy'emirembe mu miryango gyammwe, so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama.” Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Okusiiba okw'omu mwezi ogwokuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda embaga ey'okusanyuka n'okujaguza; kale mwagalenga amazima n'emirembe.” Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “ Oliboolyawo amawanga ne gajja n'abo ababeera mu bibuga ebingi; era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti, ‘Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda.’ Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mu nnaku ziri abantu kkumi (10) balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga, balikwata ku lukugiro olw'omuntu Omuyudaaya nga boogera nti, ‘Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ ” Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummulo kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri liri eri Mukama; era ne Kamasi ekiriraanye nakyo, Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo. Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu ennungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo. Laba, Mukama alikigoba mu byakyo, alikuba amaanyi gaakyo ku nnyanja; era kiryokebwa omuliro. Asukulooni kiriraba kiritya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula mu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu. Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era ndimalawo amalala g'Abafirisuuti. Era ndiggyamu omusaayi mu kamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukungu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi. Nange nnaasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange. Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy'oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n'akayana omwana gw'endogoyi. Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi, n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi. Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, ndiggya abasibe bo mu bunnya omutali mazzi. Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira nti ndikuddiza emirundi ebiri. Kubanga nneewetedde Yuda; omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyita abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira. Era Mukama alirabika waggulu gyebali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiikkaddyo Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ebikozesebwa okumansira ku nsonda z'ekyoto. Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye. Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavubuka, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala. Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebire, naye alibawa empandaggirize, buli muntu afune ebirime. Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebaava bazuŋŋana ng'endiga, babonaabona kubanga tewali musumba. “Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza abakulembeze ba Yuda, kubanga Mukama w'eggye ajja kulabirira ekisibo kye, ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo. Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery'oku nsonda, muveemu n'enninga, muveemu n'omutego ogw'akasaale, muveemu na buli mufuzi yenna. Nabo balibanga abasajja abazira mu lutalo, abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo, n'abo abeebagala embalaasi baliswala. Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yuda, ndiwonya ennyumba ya Yusufu. nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira. N'aba Efulayimu balibeeranga omulwanyi omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge. abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama. Ndibayita ne mbakuŋŋaanya; kubanga mbanunudde; era balyala nga bwe babanga edda. Newakubadde nga n'abasaasaanyiza mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo. Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri, ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli; era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni; balijjula ensi ne watasigala bbanga. Baliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; Amalala ga Bwasuli galikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako. Nange ndibafuula b'amaanyi mu Mukama; nabo balifuna ekitiibwa mu linnya lye; bw'ayogera Mukama.” Ggulawo enzigi zo, ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo. Kuba ebiwoobe, ggwe omuberosi, kubanga omuvule gugudde, kubanga emiti emirungi ennyo gyonoonese, mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani, kubanga ekibira ekitatuukikako kigudde. Wulira ebiwoobe by'abasumba! kubanga obulungi bwabwe bwonoonese. Eddoboozi ery'okuwuluguma kw'empologoma ento! kubanga olusaalu lwa Yoludaani luzikiriziddwa. Bw'ati bwe yayogera Mukama Katonda wange nti, “Liisa ekisibo eky'okuttibwa; abo abazigula bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde; so abasumba baazo zennyini tebazisaasira. Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we; nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe.” Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, okusingira ddala ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Kisa; omulala ne ngutuuma, Kwegatta; ne ndiisa ekisibo. Ne neegobako abasumba abasatu mu mwezi ogumu; kubanga emmeeme yange ng'ebakyaye era nga nabo nga bankyaye. Awo ne njogera nti, “Siibeere musumba wammwe, ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.” Ne ntwala omuggo gwange oguyitibwa “Kisa,” ne ngumenya, ne menya endagaano gye nnali nkoze n'abantu bonna. Ne gumenyeka ku lunaku olwo, era abasuubuzi b'endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Mukama. Ne mbagamba nti, “Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo.” Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu (30) eby'effeeza. Mukama n'aŋŋamba nti, “Bisuulire omubumbi,” omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu (30) ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama. Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri oguyitibwa “Kwegatta,” okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isiraeri bukomye. Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Weetwalire nate ebintu eby'omusumba omusirusiru. Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alimmenyamenya ebinuulo byazo.” “Zimusanze omusumba ataliiko ky'agasa aleka ekisibo! ekitala kifumite mukono gwe ne ku liiso lye erya ddyo; omukono gwe gukalire ddala, n'eriiso lye erya ddyo lizibire ddala.” Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama ekikwata ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye, nti, “Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuyi zonna, era Yuda wamu ne Yerusaalemi birizingizibwa. Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa. Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga. N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti,‘ Abali mu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama w'eggye Katonda waabwe.’ Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro wakati mu kibira, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono, oliboolyawo Yerusaalemi kirisigalawo, mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi. Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda. Ku lunaku luli Mukama alizibira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe. Awo olulituuka ku lunaku luli ndinoonya okuzikiriza amawanga gonna agatabaala Yerusaalemi. Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita, era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye. Ku lunaku luli balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng'ebiwoobe ebya Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni. Era ensi erikuba ebiwoobe, buli kika kyokka; ekika eky'ennyumba ya Dawudi, kyokka; ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Nasani kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Leevi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'Abasimeeyi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ebika byonna ebisigalawo, buli kika kyokka, ne bakazi baabwe bokka.” “Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi okubatukuza mu ebibi n'obutali butuukirivu bwabwe. Awo olulituuka ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate, era ate ndigya mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu. Awo olulituuka omuntu yenna bwa lyefuula nnabbi, kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti, ‘Oteekwa kufa kubanga oyogera eby'obulimba mu linnya lya Mukama.’ Awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita ng'alagula. Awo olulituuka ku lunaku luli buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw'okwolesebwa kwe okw'obulimba; so tebalyambala kyambalo kyabwe eky'ebyoya okulimba abantu. Naye alyogera nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka, kubanga ettaka kye ky'obugagga bwange okuva mu buto bwange.’ N'omu bw'alimubuuza nti, ‘Ebiwundu ebiri ku mubiri gwo byaki?’ Awo aliddamu nti, ‘Nnabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ” “Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, olwane n'omusajja annyimirira ku lusegere,” bw'ayogera Mukama w'eggye, tema omusumba, n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato. “Awo olulituuka mu nsi yonna, bw'ayogera Mukama, ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo. N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndi bakema nga zaabu bw'ekemebwa; balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira; ndyogera nti, ‘Be bantu bange;’ nabo balyogera nti, ‘Mukama ye Katonda wange.’ ” Laba, olunaku lwa Mukama lujja, ebintu ebyakunyagibwako lwe birigabanwa nga mulaba. Kubanga ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna ku Yerusaalemi okulwana; era ekibuga kirimenyebwa, n'ennyumba zirinyagibwa, n'abakazi balikwatibwa lwa maanyi: n'ekitundu ky'ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; n'ekitundu eky'abantu ekirisigalawo tekiriggibwa mu kibuga. Awo Mukama alitabaala alirwana n'amawanga galinga bwe yalwana ku lunaku olw'olutalo. Era aliyimirira n'ebigere bye ku lunaku luli ku lusozi olwa Zeyituuni olw'olekedde Yerusaalemi ebuvanjuba, n'olusozi olwa Zeyituuni lulyatika wakati waalwo ebuvanjuba n'ebugwanjuba, era walibaawo ekiwonvu ekinene ennyo; ekitundu ekimu eky'olusozi kirijjulukuka okugenda obukiikakkono, n'ekitundu kyalwo ekimu okugenda obukiikaddyo. Nammwe muliddukira mu kkubo ery'omu kiwonvu eky'ensozi zange; kubanga ekiwonvu eky'ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw'ensi okwali mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda; era Mukama Katonda wange alijja n'abatukuvu bonna wamu naawe. Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza, naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro; naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana. Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey'ebuvanjuba n'ekitundu kyago mu nnyanja ey'ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeya ne mu ttoggo. Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna; ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu. Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi olw'obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini okutuuka ku kifo eky'omulyango ogwolubereberye, ku mulyango ogw'ensonda; n'okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. Era abantu balibeera mu kyo, so nga tewakyali kikolimo; naye Yerusaalemi kiribeerawo mirembe. Na kino kye kibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu bunnya bwago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe. Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n'omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne. Era ne Yuda alirwana ne Yerusaalemi; era obugagga obw'amawanga gonna agaliraanyeewo bulikuŋŋaana, zaabu n'effeeza n'ebyambalo, bingi nnyo nnyini. Era bwe kityo bwe kiriba ekibonoobono eky'embalaasi n'eky'ennyumbu n'eky'eŋŋamira n'eky'endogoyi n'ensolo zonna eziriba mu bisulo biri, ng'ekibonoobono ekyo bwe kiriba. Awo olulituuka buli muntu alisigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza Kabaka, Mukama w'eggye, n'okukwata embaga ey'ensiisira. Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby'ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Kabaka, Mukama w'eggye, enkuba terimutonnyera. Era ekika kya Misiri bwe kitaayambukenga bwe kitajjenga, nabo teribatonnyera; walibaawo ekibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira. Ekyo kiriba kibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo eky'amawanga gonna agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira. Ku lunaku luli ku ndege z'embalaasi kulibaako nti “OBUTUKUVU ERI MUKAMA;” era n'entamu mu nnyumba ya Mukama ziriba ng'ebibya mu maaso g'ekyoto. Weewaawo, buli ntamu mu Yerusaalemi ne mu Yuda eriba ntukuvu eri Mukama w'eggye; n'abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazitoolangako ne bafumba omwo; era ku lunaku luli nga tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama w'eggye. Obubaka bw'ekigambo kya Mukama eri Isiraeri ekyajja okuyita mu Malaki. “Nnabaagala,” bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti, “Watwagala otya?” “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” Bw'ayogera Mukama, “Era naye nnamwagala Yakobo; naye Esawu nnamukyawa, ne nfuula ensozi ze okuba amatongo, ne mpa obusika bwe ebibe eby'omu ddungu.” Kubanga Edomu ayogera nti, “Tukubiddwa, naye tulidda ne tuzimba ebifo ebyazika;” bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Bo balizimba, naye nze ndyabya, era abantu banaabayitanga nti Nsi ya bubi, era nti bantu Mukama banyiigira ennaku zonna.” Era amaaso gammwe galiraba, ne mwogera nti, “Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isiraeri!” “Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we, kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa?” Era oba nga ndi mukama, okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ayi mmwe bakabona abanyooma erinnya lyange. Era mwogera nti, “Twali tunyoomye tutya erinnya lyo? Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonese. Era mwogera nti,‘Twakwonoona tutya?’ Nga mulowooza nti, Emmeeza ya Mukama eyinza okunyoomebwa. Era bwe muwaayo ensolo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, obwo si bubi! Era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, obwo nabwo si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? Oba anakkikiriza naakisiima?” Bw'ayogera Mukama w'eggye, “Kale nno mbeegayiridde, musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa. Ng'olina ekirabo bw'ekityo mungalo zo, anakkikiriza naakisiima?” Bw'ayogera Mukama w'eggye. Mu mmwe singa mubaddemu n'omu eyandiggaddewo enzigi, muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange obwereere! Sibasanyukira n'akatono, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sikkirize kiweebwayo ekiva mu mukono gwammwe. Kubanga okuva enjuba gy'eva okutuusa gy'egwa erinnya lyange kkulu mu b'amawanga; era obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu; kubanga erinnya lyange kkulu mu b'amawanga, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mmwe mulivumisa, kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'ebibala byayo, ne mmere ye, enyoomebwa. Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! Era munsoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo, nnandikkiriza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama. Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema, kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'erinnya lyange lya ntiisa mu b'amawanga. “Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe; weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga temukissa ku mwoyo. Laba, ndinenya abaana bammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe, obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo. Awo mulimanya nga nze nnaweereza ekiragiro kino gye muli, endagaano yange ebeere ne Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye. Endagaano yange naye, yabanga ndagaano ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange. Okuyigiriza okw'amazima kwabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gyabwe. Yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu. Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era abantu bandinoonyeza okuyigirizibwa okuva mu kamwa ke, kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye. Naye mmwe mukyuse mukyamye muvudde mu kkubo; mwesittazizza bangi olw'okuyigiriza kwammwe; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye. Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa, abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, kubanga mufubye obutakwata makubo gange, naye ne mulaga obutali bwenkanya mu kuyigiriza kwammwe.” Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki tetuli ba mazima buli muntu eri muganda we, nga twonoona endagaano, ya bajjajjaffe? Yuda si wa mazima, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi; kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga. Mukama azikirize okuva mu weema ya Yakobo, omusajja akola bw'atyo, yenna awa obujulizi, oba addamu, oba awaayo ekiweebwayo eri Mukama w'eggye. Era na kino nakyo mukikola, mubikka ekyoto kya Mukama n'amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, kubanga n'okussaayo takyassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo, wadde okukkiriza mu mukono gwammwe kye mumuleetera ng'asiimye. Mwebuuza nti, “Lwaki?” Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano. Era teyakola omu? Newakubadde nga yalina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe. “Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.” Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti, “Twamukooya tutya?” Kubanga mwogera nti, “Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira;” oba nga mwebuuza nti, “Katonda omwenkanya ali ludda wa?” “Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange, era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka we gwe musanyukira, laba, ajja,” bw'ayogera Mukama w'eggye Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? Era ani aliyimirira ye bw'alirabika? Kubanga aliŋŋaanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi. Alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; okutuusa lwe baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu. Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo. “Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo, n'eri abenzi, n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya empeera y'omupakasi. Nnamwandu n'atalina kitaawe, n'abawonya era n'abo abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kubanga nze Mukama sijjululuka; mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.” Okuva ku nnaku za bajjajjammwe, nga mukyuka n'emukyama okuva ku biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nti, “Tunadda tutya” Omuntu alinyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti, “Twakunyaga tutya?” Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo. Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze, eggwanga lino lyonna. Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw'ayogera Mukama w'eggye, mulabe oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya. Ndiziyiza ebiwuka obutazikiriza birime byammwe, so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. Era amawanga gonna galibayita ba mukisa, kubanga muliba ensi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye. “Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu gyendi, bw'ayogera Mukama. Era mwayogera nti, ‘Twakwogerako tutya?’ Mwayogera nti, ‘Okuweereza Katonda kwa bwereere, era kigasa ki okukwata ebyo bye yatukuutira, n'okutambula nga abakungubaga mu maaso ga Mukama w'eggye? Era kaakano ab'amalala be tuyita ab'omukisa; weewaawo, abo abakola obubi tebakoma ku kuba bulungi kwokka; naye bwe bakema Katonda bawonyezebwa.’ ” Awo abo abatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka; Mukama n'awuliriza, n'awulira bye boogera, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abatya Mukama era ne balowooza erinnya lye. “Era baliba bange, bw'ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we amuweereza. Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.” “Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amalala bonna, n'abo bonna abakola obubi, baliba bisasiro; awo olunaku olujja lulibookera ddala,” bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi. Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo. Era mulirinnyirira ababi, kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye. Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, amateeka n'ebiragiro ge nnamulagiririra ku Kolebu, olwa Isiraeri yenna. “Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo.” Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi, omwana wa Ibulayimu. Ibulayimu yazaala Isaaka; Isaaka n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be; Yuda n'azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali; Pereezi n'azaala Kezulooni; Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nasoni; Nasoni n'azaala Salumooni; Salumooni n'azaala Bowaazi mu Lakabu; Bowaazi n'azaala Obedi mu Luusi; Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi kabaka. Dawudi n'azaala Sulemaani mu muka Uliya; Sulemaani n'azaala Lekobowaamu; Lekobowaamu n'azaala Abiya; Abiya n'azaala Asa; Asa n'azaala Yekosafaati; Yekosafaati n'azaala Yolaamu; Yolaamu n'azaala Uzziya; Uzziya n'azaala Yosamu; Yosamu n'azaala Akazi; Akazi n'azaala Keezeekiya; Keezeekiya n'azaala Manase; Manase n'azaala Amoni; Amoni n'azaala Yosiya; Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biro abaana ba Isiraeri mwe baatwalirwa e Babbulooni. Oluvannyuma olw'okutwalibwa e Babbulooni, Yekoniya n'azaala Seyalutyeri; Seyalutyeri n'azaala Zerubbaberi; Zerubbaberi n'azaala Abiwuudi; Abiwuudi n'azaala Eriyakimu; Eriyakimu n'azaala Azoli; Azoli n'azaala Sadoki; Sadoki n'azaala Akimu; Akimu n'azaala Eriwuudi; Eriwuudi n'azaala Ereyazaali; Ereyazaali n'azaala Mataani; Mataani n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yusufu, eyali bba Malyamu, Malyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo. Bwe gityo emirembe gyonna, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena (14), nate okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babbulooni, emirembe kkumi n'ena (14), nate okuva ku kutwalibwa e Babbulooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena (14). N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti; Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu. Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, n'alowooza okumulekayo mu kyama. Laba bwe yali alowooza bw'atyo, malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti, “Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu. Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye y'alirokola abantu be mu bibi byabwe.” Ebyo byonna byakolebwa bituukirire Mukama bye yayogerera mu nnabbi ng'agamba nti, “Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto,” “ ‘era alizaala omwana wa bulenzi, erinnya lye aliyitibwa Emmanweri; eritegeeza nti Katonda ali naffe.’” Yusufu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika wa Mukama bwe yamulagira, n'atwala mukazi we, so teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana; Yusufu n'amutuuma erinnya lye YESU. Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abasajja abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, ne babuuza nti, “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.” Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna. N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza Kristo gye yali agenda okuzaalirwa. Nabo ne bamugamba nti, “Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya,” kubanga bwe kyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti, Naawe Besirekemu, mu nsi ya Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda; Kubanga afuga aliva mu ggwe, Alirunda abantu bange Isiraeri. Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okuva lw'eyalabika. N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti, “Mugende, munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke ŋŋende mmusinze.” Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda; laba ne baddamu okulaba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awaali omwana. Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essanyu lingi nnyo nnyini. Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu. Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe. Laba, bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, n'amugamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba, kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.” Awo Yusufu n'azuukuka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'agenda e Misiri; n'abeera eyo, okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti, “Nnayita omwana wange okuva mu Misiri.” Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamwefulidde, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaali bawezezza emyaka ebiri n'abatannagituusa, okusinziira ku biro bwe byali bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi. Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira, bwe yagamba nti, “Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; So tayagala kukubagizibwa, kubanga tebakyaliwo.” Naye Kerode bwe yamala okufa, laba, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, n'agamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Isiraeri, kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.” Awo Yusufu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina, n'agenda mu nsi ya Isiraeri. Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'agenda mu kitundu ky'e Ggaliraaya. N'ajja n'abeera mu kyalo erinnya lyakyo Nazaaleesi, ekigambo bannabbi kye baayogera kituukirire nti, “Aliyitibwa Munazaalaayo.” Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja mu ddungu ery'e Buyudaaya, nga abuulira, ng'agamba nti, “Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.” Kubanga Yokaana oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti, “Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti, Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.” Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko. Awo abantu baavanga e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali; n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe. Naye bwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti, “Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?” Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya; muleme kulowooza n'okwogera mu mitima nti, “Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe; kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okufuuliramu Ibulayimu abaana. Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro. Nze mbabatiza n'amazzi olw'okwenenya; naye oyo ajja emabega wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze; oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro. Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.” Awo Yesu n'ava e Ggaliraaya, n'atuuka ku mugga Yoludaani eri Yokaana, amubatize. Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng'agamba nti, “Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naye ate ggwe ojja gye ndi?” Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kkiriza kaakano; kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n'alyoka amukkiriza. Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi; laba, eggulu ne libikkuka, n'alaba Omwoyo gwa Katonda nga gukka ng'ejjiba, nga gujja ku ye; laba, eddoboozi ne liva mu ggulu, nga ligamba nti, “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.” Awo Yesu n'atwalibwa Omwoyo mu ddungu okukemebwa Setaani. Bwe yamala okusiiba ennaku ana (40), emisana n'ekiro, enjala n'eryoka emuluma. Omukemi n'ajja n'amugamba nti, “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ” Awo Setaani n'atwala Yesu mu kibuga ekitukuvu; n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu, n'amugamba nti, “Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi; kubanga kyawandiikibwa nti,” “ ‘Alikulagiririza bamalayika be, Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.’ ” Yesu n'amugamba nti, “Kyawandiikibwa nate nti, ‘tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” Ate Setaani n'amutwala ku lusozi oluwanvu ennyo, n'amulaga ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n'ekitiibwa kyazo; n'amugamba nti, “Ebyo byonna nnaabikuwa bw'onoovuunama n'onsinza.” Awo Yesu n'amugamba nti, “Vaawo genda, Setaani! kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ” Awo Setaani n'amuleka; laba, bamalayika ne bajja, ne bamuweereza. Awo Yesu bwe yawulira nga Yokaana akwatiddwa n'addayo e Ggaliraaya; ng'avudde e Nazaaleesi, n'ajja, n'abeera e Kaperunawumu, ekiri ku nnyanja, mu nsi ya Zebbulooni ne Nafutaali, bw'ekityo ekigambo kituukirire nnabbi Isaaya kye yayogera, ng'agamba nti, “Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, Eyoolekedde ennyanja, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey'abamawanga amalala, Abantu abaali batuula mu kizikiza, Balabye omusana mungi, N'abo abaali batuula mu nsi y'okufa ne mu kisiikirize kyakwo, Omusana gubaakidde.” Yesu n'asookera awo okubuulira n'okugamba abantu nti, “Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.” Awo Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Ggaliraaya, n'alaba ab'oluganda babiri, Simooni gwe bayita Peetero, ne Andereya muganda we, nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi. N'abagamba nti, “Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b'abantu.” Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera. N'atambulako katono mu maaso n'alaba ab'oluganda babiri abalala, Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebbedaayo, nga bayunga obutimba bwabwe; n'abo Yesu n'abayita. Amangwago ne baleka awo eryato ne kitaabwe, ne bamugoberera. Yesu n'abuna Ggaliraaya yonna, ng'ayigiririza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, era ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna mu bantu. Ebigambo bye ne bibuna Obusuuli bwonna, ne bamuleetera bonna abaali balwadde, abaali bakwatidwa endwadde ezitali zimu, n'ebibonyoobonyo, n'ab'emizimu, n'ab'ensimbu, n'abaali bakoozimbye; bonna n'abawonya. Ebibiina by'abantu bangi, ne bamugoberera nga bava e Ggaliraaya n'e Dekapoli n'e Yerusaalemi n'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani. Awo Yesu bwe yalaba ebibiina by'abantu, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja w'ali; n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti: “Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.” “Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa.” “Balina omukisa abateefu, kubanga abo balisikira ensi.” “Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu, kubanga abo balikkusibwa.” “Balina omukisa ab'ekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa.” “Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda.” “Balina omukisa abakolerera emirembe, kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.” “Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe. Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayirizanga buli kigambo kibi, nga babalanga nze. Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga bwe batyo bwe baayigganyanga bannabbi abaasooka mmwe.” “Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Guba tegukyagasa nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu ne bagulinnyirira. Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kizimbibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa. So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju. Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu, balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.” “Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi; sajja kubidibya, wabula okubituukiriza. Kubanga mazima mbagamba nti, eggulu n'ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakubadde akatonnyeze akamu ak'omu Mateeka tekaliggwaawo, okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira. Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu; naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.” “Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga; naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango.’ naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, aba azizza omusango; n'oyo anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwa mu lukiiko, ate anaagambanga muganda nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena. Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'osinzira eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo ky'akwemulugunyiza, leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo. Tabagananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera. Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukomekkereza okusasula n'eppeesa erisembayo.” “Mwawulira bwe baagambibwa nti, ‘Toyendanga,’ naye nange mbagamba mmwe nti buli muntu atunuulira omukazi n'amwegomba, mu mutima gwe ng'amaze okumwendako. Singa eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gulisuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena. Era singa omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, ogusuule wala; kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gulisuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena.” “Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba; naye nange mbagamba nti buli muntu anaagobanga mukazi we, wabula ng'amugobye lwa bwenzi, ng'amwenzezza, n'oyo anaawasanga gwe baagoba, ng'ayenze.” “Era mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti, ‘Tolayiranga bya bulimba, naye otuukirizanga eri Mukama ebyo byolayidde;’ naye nange mbagamba nti Tolayiranga n'akatono, newakubadde eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda; newakubadde ensi, kubanga ye gy'ateekako ebigere bye; newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu. So tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza kufuula luviiri lumu oba lweru oba luddugavu. Naye ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo; naye ebisinga ebyo biva mu mubi.” “Mwawulira bwe baagambibwa nti ‘Eriiso ligattibwenga liiso, n'erinnyo ligattibwenga linnyo,’ naye nange mbagamba mmwe nti Temuziyizanga mubi; naye omuntu bw'akukubanga ku luba olwa ddyo, omukyusizanga n'olwa kkono. Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibaawo kyo. Omuntu bw'akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri. Akusabanga omuwanga; omuntu bw'ayagalanga okumuwola, tomwegobangako.” “Mwawulira bwe baagambibwa nti, ‘Oyagalanga munno, okyawanga omulabe wo;’ naye nange mbagamba mmwe nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya; mulyoke mubeerenga abaana bakitammwe ali mu ggulu; kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, era atonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu. Kubanga bwe munaayagalanga abo ababaagala, mulina mpeera ki? N'abawooza tebakola bwe batyo? Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, olwo kye mukoze okusinga abalala ki? N'ab'amawanga tebakola bwe batyo? Kale mmwe mubeerenga batuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.” “Mwekuume obutakoleranga bikolwa byammwe eby'obutuukirivu mu maaso g'abantu balyoke babalabe; kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temuuweebwenga mpeera okuva eri Kitammwe ali mu ggulu.” Kale, bw'ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, ng'abannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti baba bamaze okuweebwa empeera yaabwe. Naye ggwe bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo kye gukola, okugaba kwo kubeerenga kwa kyama; kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera. Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi; kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe. Naye ggwe bw'osabanga, yingiranga mu kisenge kyo munda, omalenga okuggalawo oluggi, olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera. Nammwe bwe musabanga, temudiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola; kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi. Kale, temufaanananga nga bo, kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba. Kale, musabenga bwe muti, nti, “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Otuwe leero emmere yaffe eya leero. Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatwewolako. Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole mu bibi. [Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, bibyo, emirembe n'emirembe, Amiina.”] “Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. Naye bwe mutaasonyiwenga bantu byonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe.” Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku; kubanga beeyonoona mu ndabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe. Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso; abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera. Temweterekeranga bintu ku nsi, kwe byonoonekera n'ennyenje n'obutalagge, n'ababbi kwe basimira ne babba, naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje newakubadde obutalagge, so n'ababbi gye batasimira, so gye batabbira. Kubanga ebintu byo gye bibeera, omutima gwo nagwo gye gubeera. “Ettabaaza y'omubiri lye liiso, eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'okutangaala. Naye eriiso lyo bwe litaba ddamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'ekizikiza. Kale okutangaala okuli munda mu ggwe bwe kubeera ekizikiza, ekizikiza ekyo kiryenkana wa obunene!” Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri; kuba oba anaakyawanga omu, n'ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n'anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona. Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki, mulinywa ki; newakubadde omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebusinga mmere, n'omubiri tegusinga byakwambala? Mulabe ennyonyi ez'omu bbanga, nga tezisiga, so tezikungula, tezikuŋŋaanyiza mu mawanika; era Kitammwe ali mu ggulu aziriisa ezo. Mmwe temusinga nnyo ezo? Ani mu mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okweyongerako ku bukulu bwe n'akaseera akamu? Naye ekibeeraliikiriza ki eby'okwambala? Mutunuulire amalanga ag'omu ttale, bwe gamera; tegakola mulimu, so tegalanga lugoye; naye mbagamba nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go. Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale, oguliwo leero, ne jjo bagusuula mu kyoto, talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? Kale temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? Oba tulinywa ki? Oba tulyambala ki? Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna. Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako. Kale temweraliikiriranga bya jjo, kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku olumu ekibi kyalwo kirumala. “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa. Kubanga omusango nga bwemugusalira abalala, nammwe bwe gulibasalirwa, era ekigera kye mugereramu, ekyo nammwe kye muligererwamu. Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Oba oligamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo; sso nga ku liiso lyo kuliko enjaliiro? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo. “Ekintu ekitukuvu temukiwanga mbwa, era temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma.” Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo; kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo. Muntu ki mu mmwe, omwana we bw'alimusaba emmere, alimuwa ejjinja; oba bw'alisaba ekyennyanja, alimuwa omusota? Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abo abamusaba? Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe bwe mutyo mubibakolenga; kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi. Muyingire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo lyangu eridda mu kuzikirira, n'abo abaliyitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo zibu eridda mu bulamu, n'abo abaliraba batono. Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye nga munda gy'emisege egisikula. Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango? Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro. Kale mulibategeerera ku bibala byabwe. “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala. Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe; muve we ndi mmwe mwenna abaakola eby'obujeemu.” Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi: enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba enju eyo; so n'etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi. Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu; enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba enju eyo; n'egwa, n'okugwa kwayo kwali kunene. Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi baabwe. Yesu bwe yava ku lusozi, ebibiina by'abantu ne bimugoberera. Kale, laba, omugenge n'amusemberera n'amusinza, n'agamba nti. “Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.” Yesu n'agolola omukono, n'amukwatako, ng'agamba nti, “Njagala; longooka.” Amangu ago ebigenge bye ne birongooka. Yesu n'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu n'omu; naye genda weerage eri kabona, omutwalire ekitone Musa kye yalagira, kibeere omujulirwa gyebali.” Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omwami w'ekitongole Omuruumi n'ajja gy'ali, n'amwegayirira, ng'agamba nti, “Mukama wange, mulenzi wange agalamidde mu nnyumba akoozimbye, abonaabona kitalo.” Yesu n'amugamba nti, “Najja ne mmuwonya.” Omwami w'ekitongole Omuruumi n'addamu n'agamba nti, “Mukama wange, sisaanira ggwe okuyingira wansi w'akasolya kange: naye yogera kigambo bugambo, mulenzi wange anaawona. Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala; bwe ŋŋamba oyo nti, ‘Genda,’ agenda, n'omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti, ‘Kola bwoti,’ bw'akola.” Naye Yesu bwe yawulira, ne yeewuunya, n'agamba abaayita naye nti, “Ddala mbagamba nti Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri. Nange mbagamba nti Bangi abaliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, abalituula awamu ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, mu bwakabaka obw'omu ggulu, naye abaana b'obwakabaka baligoberwa mu kizikiza eky'ebweru; ye eriba okukaaba n'okulumwa obujiji.” Yesu n'agamba omwami w'ekitongole Omuruumi nti, “Kale genda; nga bw'okkirizza, kibeere gy'oli bwe kityo.” Omulenzi n'awonerawo mu kiseera ekyo. Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n'alaba nnyazaala wa Peetero ng'agalamidde alwadde omusujja. N'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuwonako; n'agolokoka, n'amuweereza. Obudde bwali buwungedde, ne bamuleetera bangi abakwatiddwa dayimooni; n'agoba dayimooni n'ekigambo n'awonya bonna abaali balwadde. Ekigambo kituukirire ekyayogerwa nnabbi Isaaya, ng'agamba nti, “Ye yennyini yatwala obunafu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.” Awo Yesu bwe yalaba nga ebibiina bingi nga bimwetoolodde, n'alagira bagende emitala w'eri. Omuwandiisi omu n'ajja, n'amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaayitanga naawe buli gy'onoogendanga yonna.” Yesu n'amugamba nti, “Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu; naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.” Omuyigirizwa we omulala n'amugamba nti, “ Mukama wange, sooka ondeke ŋŋende nziike kitange.” Naye Yesu n'amugamba nti, “Yita nange; leka abafu baziike abafu baabwe.” Awo Yesu n'asaabala mu lyato, abayigirizwa be ne bamugoberera. Omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, amayengo ne gakuba eryato; naye Yesu yali yeebase. Abayigirizwa be ne bajja gy'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti, “ Mukama waffe, tulokole; tufa.” Yesu n'abagamba nti, “Kiki ekibatiisa, mmwe abalina okukkiriza okutono?” N'alyoka agolokoka, n'alagira omuyaga n'amayengo okukkakkana, ennyanja n'eteeka nnyo. Abantu ne beewuunya, ne bagamba nti, “Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira?” Awo Yesu bwe yatuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagadaleni, abantu babiri abaaliko dayimooni, ne bamusisinkana nga bava mu ntaana, baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza okuyita mu kkubo eryo. Laba, ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “Otuvunaana ki, ggwe Omwana wa Katonda? Ozze wano kutubonyaabonya ng'entuuko zaffe tezinnaba kutuuka?” Waaliwo walako okuva ne we baali ekisibo ky'embizzi nnyingi nga zirya. Dayimooni ne gimwegayirira ne gigamba nti, “Bw'oba otugoba, ku bantu bano tusindike mu kisibo ky'embizzi.” N'agigamba nti, “Mugende.” Ne gibavaako, ne gigenda mu mbizzi; kale, laba ekisibo kyonna ne kifubutuka ne kiserengetera ku bbangabanga, ne kyesuula mu nnyanja, ne zifiira mu mazzi. N'abaali balunda embizzi ne badduka, ne bagenda mu kibuga, ne bababuulira byonna, n'ebikwata ku bali ababaddeko dayimooni. Laba, ekyalo kyonna ne kijja okusisinkana Yesu; bwe baamulaba, ne bamwegayirira okuva mu kitundu kyabwe. Awo Yesu n'asaabala mu lyato, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe. Awo ne bamuleetera omulwadde eyali akoozimbye, ng'agalamizibbwa ku kitanda; naye Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Kale, laba, abawandiisi abalala ne boogera mu myoyo gyabwe nti, “Ono avvoola Katonda.” Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba nti, “Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe? Kubanga ekyangu kiruwa, okugamba nti, ‘Ebibi byo bikusonyiyiddwa,’ oba okugamba nti, ‘Golokoka otambule?’ Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi,” n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.” N'ayimirira, n'addayo ewuwe. Naye ebibiina bwe byalaba ne bitya, ne bigulumiza Katonda, eyawa abantu obuyinza obwenkanidde awo. Yesu bwe yavaayo n'alaba omuntu, ayitibwa Matayo, ng'atudde mu ggwoolezo; n'amugamba nti, “Yita nange.” N'asituka, n'amugoberera. Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'atudde mu nju ng'alya, laba, abawooza bangi ne bajja, n'abantu ababi bangi, ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa. Abafalisaayo bwe baalaba ekyo, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Omuyigiriza wammwe kiki ekimuliisa n'abawooza n'abantu ababi?” Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Naye mugende muyige amakulu g'ekigambo kino nti, ‘Njagala kisa, so si ssaddaaka,’ kubanga sajja kuyita batuukirivu, wabula abantu ababi.” Awo abayigirizwa ba Yokaana, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Kiki ekitusiibya ffe n'Abafalisaayo emirundi emingi, naye abayigirizwa bo nga tebasiiba?” Yesu n'abaddamu nti, “Abaana ab'omu mbaga ey'obugole bayinza batya okunakuwala awasizza omugole ng'akyali nabo? Naye ennaku zigenda okujja awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba. Tewali muntu atunga kiwero ekiggya mu kyambalo ekikadde; kubanga ekyo ekitungibwamu kiyuza ekyambalo, n'ekituli kyeyongera okugaziwa. So tebateeka mwenge musu mu nsawo za maliba enkadde; kubanga bwe bakola bwe batyo, ensawo ez'amaliba ziyulika, n'omwenge guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana; naye bateeka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba empya, byombi birama.” Bwe yali ng'akyabagamba ebigambo ebyo, ne wajja omwami omu, n'amusinza n'agamba nti, “Muwala wange kaakano afudde; naye jjangu omuteekeko emikono, anaalamuka.” Yesu n'asituka n'amugoberera, wamu n'abayigirizwa be. Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12), n'ajja emabega wa Yesu, n'akoma ku lukugiro lw'ekyambalo kye; kubanga yayogera mu mwoyo gwe nti, “Bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.” Naye Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti, “Mwana wange, guma omwoyo; okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Omukazi n'awona okuva mu kiseera ekyo. Yesu bwe yatuuka mu nju y'omwami oyo, n'alaba abafuuwa endere, n'ekibiina nga bakuba ebiwoobe, n'agamba nti, “Muveewo, kubanga omuwala tafudde, wabula yeebase bwe basi.” Ne bamusekerera nnyo. Naye ekibiina bwe kyamala okugobebwawo, n'ayingira, n'amukwata ku mukono; omuwala n'agolokoka. Ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi eyo yonna. Naye Yesu bwe yavaayo, abazibe b'amaaso babiri ne bamugoberera, nga boogerera waggulu nga bagamba nti, “Tusaasire, ggwe omwana wa Dawudi.” Bwe yatuuka mu nju, abazibe b'amaaso ne bajja gy'ali; Yesu n'ababuuza nti, “Mukkirizza nga nnyinza okukola kino?” Ne bamuddamu nti. “Weewaawo, Mukama waffe.” N'alyoka akwata ku maaso gaabwe ng'agamba nti, “Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo.” Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti, “Mulabe tewaba muntu n'omu amanya.” Naye bo ne bafuluma, ne babunya ebigambo bya Yesu mu nsi eyo yonna. Awo bwe baali bafuluma ne bamuleetera kasiru, ng'aliko dayimooni. Yesu n'amugobako dayimooni, kasiru n'ayogera; ebibiina ne byewuunya, ne bigamba nti, “Edda n'edda tewalabikanga ekiri nga kino mu Isiraeri.” Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni nga akozesa buyinza bwa mukulu wa dayimooni.” Yesu n'ayitayita mu bibuga byonna, n'embuga zonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna. Naye bwe yalaba ebibiina, n'abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng'endiga ezitalina musumba. N'alyoka agamba abayigirizwa be nti, “Eby'okukungula bye bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe Omwami w'eby'okukungula, asindike abakozi mu by'okukungula bye.” Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12), n'abawa obuyinza ku myoyo emibi, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna. Abatume abo ekkumi n'ababiri (12), amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we; Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo; Simooni Omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri (12) n'ababuulirira, ng'agamba nti, “Temugenda mu b'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya; naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri. Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti, ‘Obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.’ Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni; mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa. Temutwala zaabu, newakubadde effeeza, newakubadde ebikomo mu nkoba zammwe; newakubadde ensawo ey'olugendo, newakubadde ekkanzu ebbiri, newakubadde engatto, newakubadde omuggo; kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa bye yeetaaga. Naye buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw'ali asaana; musulanga omwo okutuusa lwe mulivaayo. Bwe munaayingiranga mu nju, mulamusenga abali mu nju omwo. Abali mu nju eyo bw'ebanaasaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku bo; naye bw'ebataasaanenga, emirembe gyammwe giddenga gye muli. Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe, bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe. Ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okusinga ekibuga ekyo.” “Laba, nze mbatuma nga muli ng'endiga wakati mu misege; kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa. Naye mwekuumanga abantu; kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu; era mulitwalibwa eri abaamasaza n'eri bakabaka okubalanga nze, n'okuba obujulirwa eri bo; era n'ab'amawanga. Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaayogera tutya? Oba nti Tunaayogera ki? Kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera. Kubanga si mmwe mulyogera, wabula Omwoyo gwa Kitammwe ye alyogerera mu mmwe. Ow'oluganda anaawangayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we; n'abaana banaajeemeranga ababazaala, ne babawaayo okuttibwa. Munnaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange; naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka. Bwe babagobanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu ky'okubiri; kubanga ddala mbagamba nti, Temulibunya bibuga bya Isiraeri byonna, nga Omwana w'omuntu tannajja.” “Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza, so n'omuddu tasinga mukama we. Ayigirizibwa kimumala okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo okuyita abo abali mu nju ye?” “Kale temubatyanga; kubanga tewali kigambo ekyabikkibwa, ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa. Kye mbagambiranga mu kizikiza, mukyogereranga mu musana; kye muwuliriranga mu kutu, mukibuuliriranga waggulu ku nnyumba. So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo; naye mumutyenga oyo ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu Ggeyeena. Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? Naye tewaliba n'emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tayagadde; era n'enviiri zammwe ez'oku mutwe zaabalibwa zonna. Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi. “Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g'abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Naye yenna alinneegaanira mu maaso g'abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.” “Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we; abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye. Ayagala kitaawe oba nnyina okubasinza nze, tansaanira; ayagala mutabani oba muwala we okubasinza nze, tansaanira. N'oyo atakwata musalaba gwe n'angoberera tansaanira. Alaba obulamu bwe alibubuza; n'oyo abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.” “Akkiriza mmwe ng'akkirizza nze, n'akkiriza nze ng'akkirizza eyantuma. Akkiriza nnabbi olw'okuba nga nnabbi aliweebwa empeera ng'eya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu olw'okuba mutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu. Era buli awa omu ku bano abato ekikompe ky'amazzi amannyogovu okunywa, olw'okuba nga muyigirizwa wange, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n'akatono.” Awo olwatuuka Yesu bwe yamaliriza okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12), n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe. Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera, Kristo by'akola, n'atuma abayigirizwa be, okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala?” Yesu n'abaddamu nti, “Muddeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba; abazibye amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri. Naye alina omukisa oyo yenna atalinneesittalako.” Nabo bwe baagenda, Yesu n'atandika okwogera n'ebibiina ku Yokaana nti, “Kiki kye mwagenderera mu ddungu okutunuulira? Olumuli olunyeenyezebwa n'empewo? Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde ezinekaaneka? Laba, abambala ezinekaaneka baba mu nnyumba za bakabaka. Naye kiki kye mwagenderera? Kulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.” “ Oyo ye yawandiikibwako nti,” “ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go. ’ ” “ ‘Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.’ ” “‘Ddala mbagamba nti Tevanga mu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza; naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye. Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okutuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'ababuwaguza babunyaga lwa maanyi. Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baayogeranga ebya Katonda okutuusa ku Yokaana, ebifa ku bwakabaka. Era oba nga mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.’ Alina amatu ag'okuwulira, awulire. Naye emirembe gino nnaagifaananya ki? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe, nga bagamba nti, ‘Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.’ Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti, ‘Aliko dayimooni.’ Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti, ‘Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi!’ Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa byago.” Awo Yesu n'atandika okubuulirira ebibuga mwe yakolera eby'amagero eby'amaanyi, kubanga tebyenenya n'agamba nti, “Zirikusanga ggwe Kolaziini! Zirikusanga ggwe Besusayida! Kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu. Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe. Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? Olikka emagombe; kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodomu, singa weekiri ne kaakano. Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.” Mu kiseera ekyo, Yesu yaddamu n'agamba nti, “Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakalabakalaba n'obibikkulira abaana abato; weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go. Ebintu byonna byankwasibwa Kitange; so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumumubikkulira. Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima, nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.” Awo mu biro ebyo Yesu n'ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku ssabbiiti; abayigirizwa be ne balumwa enjala, ne batandika okunoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya. Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti, “Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo ekitakkirizibwa kukolerwa ku ssabbiiti.” Naye Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala, ne be yali nabo; bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy'omuzizo ye okugirya, newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka? Nantiki temusomanga mu mateeka nti, ku Ssabbiiti, mu Yeekaalu, bakabona baasobya ssabbiiti, so ne batazza musango? Naye mbagamba nti ali wano asinga Yeekaalu obukulu. Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti Njagala ekisa, so si ssaddaaka, temwandinenyezza abatazzizza musango. Kubanga Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.” Awo Yesu n'avaayo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe; era, laba, mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze, ne bamubuuza, nga bagamba nti, Kirungi okuwonyeza omuntu ku ssabbiiti? Yesu n'abaddamu nti, “Ani mu mmwe, bw'aliba n'endiga ye emu, n'emala egwa mu bunnya ku ssabbiiti, ataligikwata n'agiggyamu? Omuntu tasinga nnyo ndiga? Kale kirungi okukola obulungi ku ssabbiiti.” N'alyoka agamba omuntu oyo nti, “Golola omukono gwo.” N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogwokubiri. Naye Abafalisaayo ne bafuluma, ne bamwekobaana bwe banaamuzikiriza. Yesu bwe yategeera n'avaayo, abantu bangi ne bagenda naye; n'abawonya bonna, n'abakomako baleme okumwatuukiriza. Kino kituukirize ekyayogererwa mu Isaaya nnabbi nti, “Laba omuweereza wange gwe nnalondamu; Gwe njagala, asanyusa emmeeme yange. Ndimuteekako Omwoyo gwange, Alibuulira amawanga eby'obwenkanya. Taliyomba, so talireekaana; So tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo. Olumuli olwatifu talirumenya, So n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza, Okutuusa lw'alireetera obwenkanya okuwangula; era mu linnya lye amawanga gonna mwe galisuubirira.” Awo ne baleetera Yesu omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa, n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera, era n'alaba. Ebibiina byonna ne bisamaalirira, ne byogera nti, “Ono ayinza okuba nga ye mwana wa Dawudi?” Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti, “Oyo tagoba dayimooni, nga akozesa obuyinza obulala bwonna wabula obwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.” Yesu bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti, “Buli bwakabaka bwe bwawukanamu bwokka na bwokka buzikirira; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka erisasika; ne Setaani bw'agoba Setaani aba ayawukanye yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulisigalawo butya? Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Kale abo be balibasalira omusango. Naye oba nga nze ngoba dayimooni ku bw'Omwoyo gwa Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde. Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? N'alyoka anyaga enju ye. Omuntu atabeera nange mulabe wange; era omuntu atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika. Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.” “Mufuule omuti okuba omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi; kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo. Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? Kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera. Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi, n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi. Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango. Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinzisa omusango.” Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti, “Omuyigiriza, twagala tulabe akabonero akava gyoli.” Naye Yesu, n'addamu n'abagamba nti, “Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona. Kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu (3), emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka. Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinzisa omusango; kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano. Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinzisa omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.” “Naye omwoyo omubi bwava ku muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa. Kale agamba nti, ‘N'addayo mu nnyumba yange mwe nnava;’ bw'atuukamu, agiraba nga njereere, enyiridde, era ng'erongoosebbwa. Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo; n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri abantu ab'emirembe gino emibi.” Yesu bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde ebweru, nga baagala kwogera naye. Omuntu omu n'amugamba nti, “Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde ebweru, baagala kwogera naawe.” Naye Yesu n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti, “Ani mmange? Era be baani baganda bange?” N'agolola omukono ggwe eri abayigirizwa be, n'agamba nti, “Laba, mmange ne baganda bange! Kubanga buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.” Ku lunaku olwo Yesu n'afuluma mu nju, n'atuula ku lubalama lw'ennyanja. Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula mu lyo; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku lubalama. N'ayogera nabo bingi mu ngero, ng'agamba nti, “Laba, omusizi yafuluma okusiga; bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. Ensigo endala ne zigwa awali enjazi, awatali ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu, enjuba bwe yavaayo, ne ziwotookerera; kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. Ensigo endala ne zigwa mu maggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa. Ensigo endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi (100), endala nkaaga (60), endala asatu (30). Alina amatu, awulire.” Awo abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti, “Kiki ekikwogeza nabo mu ngero?” N'abaddamu n'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa. Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukkirirawo; naye buli atalina, aliggibwako ne kyali nakyo. Kyenva njogera nabo mu ngero; kubanga batunula, naye tebalaba, bawuliriza, naye tebawulira, era tebategeera. Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti,” “ ‘Muliwulira buwulizi, naye temulitegeera;’” “ ‘Muliraba bulabi, naye temulyetegereza.’ ” “‘Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde,’” “ ‘N'amatu gaabwe gawulira bubi,’” “ ‘N'amaaso gaabwe bagazibye;’” “ ‘Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu,’” “‘N'okutegeera n'omutima,’” “‘N'okukyuka,’” “‘Ne mbawonya.’” “‘Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira.’” “‘Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'abantu abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira.’” “Kale nno mmwe muwulire amakulu g'olugero lw'omusizi. Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu mutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo. N'oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira ekigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu; naye olw'okuba talina mmizi munda mu ye, bw'alwawo akaseera katono; bwe wabaawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala. N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwa eby'obugagga bizisa ekigambo, n'ekitabala. N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo abalira ddala ebibala, omulala aleeta kikumi (100), omulala nkaaga (60), n'omulala asatu (30).” Awo Yesu n'abaleetera olugero olulala n'ayogera nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye; naye abantu bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda. Naye bwe yameruka, bwe yayanya, n'erabika n'eŋŋaano ey'omu nsiko. Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti, ‘Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Kale yali etya okubaamu eŋŋaano ey'omu nsiko?’ N'abagamba nti, ‘Omulabe ye yakola atyo.’ Abaddu ne bamugamba nti, ‘Kale oyagala tugende tugikoolemu?’ Naye n'agamba nti, ‘Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini. Muleke bikule byombi bituuse amakungula; mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe, naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ” Yesu n'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye; akasigo kano ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kakula, kaba kanene okusinga ebimera byonna, ne kavaamu omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga ne zijja, ne zibeera ku matabi gaagwo.” Yesu n'abagamba olugero olulala nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.” Ebigambo ebyo byonna Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo kyonna; kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti, Ndyasamya akamwa kange mu ngero; Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi. Awo Yesu n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omunsiko eyali mu nnimiro.” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'omuntu; ennimiro ye nsi; ensigo ennungi, abo be baana b'obwakabaka; n'eŋŋaano ey'omu nsiko be baana b'omubi; omulabe eyagisiga ye Setaani; amakungula ye nkomerero y'ensi; n'abakunguzi be bamalayika. Kale ng'eŋŋaano ey'omu nsiko bw'ekuŋŋaanyizibwa n'eyokebwa mu muliro; bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. Omwana w'omuntu alituma bamalayika be, nabo baliggyamu mu bwakabaka bwe ebintu byonna ebisittaza, n'abo abakola obubi, balibasuula mu kikoomi eky'omuliro; mwe muliba okukaaba amaziga n'okulumwa obujiji. Kale abantu abatuukirivu balimasamasa ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire.” “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu kyeyalaba, n'akikweka; era olw'essanyu n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo.” “Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu omusuubuzi anoonya eruulu ennungi, bwe yalaba eruulu emu ey'omuwendo omungi, n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agigula.” “Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri; bwe kyajjula, ne bakiwalulira ku ttale; ne batuula, ne bakuŋŋaanyiza ebirungi mu nkanga, ebibi ne babisuula. Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi, bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu, balibasuula mu kikoomi eky'omuliro; mwe muliba okukaaba amaziga n'okulumwa obujiji.” “Mubitegedde ebigambo bino byonna?” Ne bamugamba nti, “Weewaawo.” N'abagamba nti, “Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde.” Awo olwatuuka Yesu bwe yamala engero zino, n'avaayo. Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino? Ono si ye mwana w'omubazzi? Nnyina si gwe bayita Malyamu? Ne baganda be Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni, ne Yuda? Ne bannyina bonna tebali waffe? Kale ono yaggya wa ebigambo bino byonna?” Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.” Era teyakolerayo bya magero bingi olw'obutakkiriza bwabwe. Mu biro ebyo Kerode owessaza n'awulira ettutumu lya Yesu, n'agamba abaddu be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye.” Kubanga Kerode yali akutte Yokaana, n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa Firipo muganda we. Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Kya muzizo ggwe okufuula Kerodiya mukazi wo.” Kerode bwe yali ayagala okumutta, naye n'atya abantu, kubanga baamulowooza nga ye nnabbi. Bwe lwatuuka olunaku olw'okujjukirirako amazaalibwa ga Kerode, muwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode. Awo Kerode n'asuubiza n'ekirayiro okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba. Ng'apikirizibwa nnyina, omuwala, n'agamba nti, “Mpeera wano ku lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.” Kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa; n'atuma, mu kkomera ne batemako Yokaana omutwe. Ne baleeta omutwe gwa Yokaana ku lutiba, ne baguwa omuwala; naye n'agutwalira nnyina. Abayigirizwa ba Yokaana ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu. Awo, Yesu bwe yawulira ebyo, n'aviirayo mu lyato, n'agenda kyama mu kifo eky'eddungu; ebibiina by'abantu bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu. Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba ekibiina kinene eky'abantu, n'abasaasira, n'awonya abalwadde baabwe. Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Wano ddungu, ate n'obudde buyise nnyo; siibula abantu, bagende mu bibuga, beegulire emmere.” Naye Yesu n'abagamba nti, “Tewali kubeetaagisa kugenda; mmwe mubawe eby'okulya.” Ne bamugamba nti, “Tetulina kintu wano okuggyako emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.” Yesu n'agamba nti, “Mubindeetere wano.” N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira ebibiina. Bonna ne balya, ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri. N'abo abaalya baali abasajja ng'enkumi ttaano (5,000), nga tossizako bakazi n'abaana. Amangwago Yesu n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala, bamukulembere okugenda emitala w'eri, ye amale okusiibula ebibiina. Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba; obudde ne buwungeera, nga Yesu aliyo bw'omu. Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwali gubafuluma mu maaso. Awo ekiro mu kisisimuka ekyokuna Yesu n'ajja gyebali, ng'atambulira ku nnyanja. Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne bakwatibwa ensisi, ne bagamba nti, “Dayimooni!” Ne baleekaana olw'okutya. Amangwago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti, “Muddemu omwoyo, nze nzuuno; temutya.” Peetero n'amuddamu n'agamba nti, “Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli nga ntambulira ku mazzi.” Yesu n'agamba nti, “Jjangu.” Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu. Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya, n'atandika okukka mu mazzi nga asaanawo, n'akaaba, n'agamba nti, “Mukama wange, ndokola.” Amangwago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza?” Bombi bwe baalinnya mu lyato, omuyaga ne guggwaawo. N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti, “Mazima oli Mwana wa Katonda.” Bwe baamala okuwunguka, ne batuuka ku lukalu olw'e Genesaleeti. Abantu baayo bwe baamumanya, ne batuma mu nsi eyo yonna eriraanyeewo, ne bamuleetera bonna abalwadde; ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaakomako ne bawonyezebwa ddala. Awo Abafalisaayo n'abawandiisi abaava mu Yerusaalemi, ne bajja eri Yesu ne bagamba nti, “Abayigirizwa bo kiki ekiboonoonyesa obulombolombo bwe twaweebwa abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.” Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Nammwe kiki ekiboonoonyesa etteeka lya Katonda olw'obulombolombo bwe mwaweebwa? Kubanga Katonda yagamba nti, ‘Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko,’ nate nti, ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi.’ Naye mmwe mugamba nti, ‘Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda, alireka okusaamu ekitiibwa kitaawe.’ Bw'emutyo mwadibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa.” “Bannanfuusi mmwe, Isaaya yayogera bulungi ebya Katonda ebibakwatako ng'agamba nti,” “‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa;’” “‘Naye omutima gwabwe gundi wala.’ ” “‘Naye bansinziza bwereere,’” “Bayigiriza amateeka g'abantu obuntu nga bye by'okukwata.” Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, n'abagamba nti, “Muwulire, era mutegeere; ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu.” Awo abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Omanyi ng'Abafalisaayo baanyiize, bwe baawulidde ekigambo ekyo?” Naye Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Buli kisimbe Kitange ow'omu ggulu ky'ataasimba, kirisimbulwa. Mubaleke; be basaale abatalaba. Naye omuzibe w'amaaso bw'akulembera muzibe munne, bombi baligwa mu bunnya.” Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Tunnyonnyole amakulu g'olugero olwo.” Yesu n'agamba nti, “Era nammwe temunnaba kuba na magezi? Temutegeera nti buli ekiyingira mu kamwa kigenda mu lubuto, mwe kiva ne kisuulibwa mu kiyigo? Naye ebifuluma mu kamwa, biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu. Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, n'okuvuma. Ebyo bye byonoona omuntu; naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu.” Yesu n'avaayo, n'agenda ku njuyi z'e Ttuulo n'e Sidoni. Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja gy'ali n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Onsaasire, Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni.” Naye Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti, “Musiibule; kubanga ajja atuleekaanira.” Yesu n'addamu n'agamba nti, “Saatumibwa walala wonna okuggyako eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.” Naye omukazi n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.” Yesu n'addamu n'agamba nti, “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'ogisuulira obubwa.” Naye omukazi n'agamba nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n'obubwa bulya ku bukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.” Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti, “Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene! Kibeere gy'oli nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo. Yesu n'avaayo, n'ajja ku lubalama lw'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo. Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya, ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba; ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri. Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti, “Nsaasira abantu, kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya, n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, mpozzi banaazirikira mu kkubo.” Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, egiyinza okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano?” Yesu n'abagamba nti, “Mulina emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Musanvu, n'ebyennyanja bitono si bingi.” Awo Yesu n'alagira ekibiina okutuula wansi; n'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'abimenyamu n'awa abayigirizwa, n'abayigirizwa ne bagabira ebibiina. Bonna ne balya, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ne bujjuza ebisero musanvu. N'abo abaalya baali abasajja enkumi nnya (4,000), nga tossizaako bakazi n'abaana. N'asiibula ebibiina, n'asaabala mu lyato, n'ajja mu kitundu ky'e Magadani. Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu, ne bamukema nga bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu. Naye Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “ Bwe buba akawungeezi, mugamba nti [‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyuse.’ Ku makya mugamba nti, ‘Wanaabayo omuyaga leero, kubanga eggulu limyuse era libindabinda.’ Mumanyi okunnyonnyola endabika y'eggulu; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?] Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; naye tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abaleka, n'agenda. Abayigirizwa bwe batuuka emitala w'eri, baali beerabidde okutwala emigaati. Yesu n'abagamba nti, “Mulabuke mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.” Bo ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti, “Kubanga tetuleese migaati.” Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka olw'okuba temulina migaati? Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano (5,000), n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya? Era emigaati omusanvu, egyakkusa abantu enkumi ennya (4,000), n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya? Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambye lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.” Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okwekuuma okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo. Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti, “Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya?” Ne bamuddamu nti, “Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya, abalala nti Yeremiya, oba omu ku bannabbi.” Awo ye n'ababuuza nti, “Naye mmwe mumpita mutya?” Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.” Yesu n'amuddamu n'amugamba nti, “Olina omukisa, Simooni Ba-Yona! Kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu. Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nze ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno, so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza. Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu, kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa ne mu ggulu, kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululwa ne mu ggulu.” Awo n'akuutira abayigirizwa baleme okubuulirako omuntu nti ye Kristo. Okuva olwo, Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa. Awo Peetero n'atwala Yesu ku bbali, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti, “Nedda, Mukama wange! Ekyo tekirikubaako n'akatono.” Yesu n'akyuka, n'agamba Peetero nti, “Dda emabega wange, Setaani! Oli nkonge gye ndi; kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.” Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw'ayagala okujja emabega wange, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere. Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba. Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? Oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe? Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola. Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.” Ennaku omukaaga (6) bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero, n'ab'oluganda Yakobo ne Yokaana, n'abakulembera ne balinnya ku lusozi oluwanvu bokka. Awo n'afuusibwa mu maaso gaabwe, amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira. Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye. Peetero n'agamba Yesu nti, “Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu (3), emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya.” Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza, era, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.” Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne batya nnyo, ne bagwa wansi nga beevuunise. Awo Yesu n'ajja we bali, n'abakwatako, n'agamba nti, “Muyimuke, temutya.” Bwe bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu mulala, wabula Yesu yekka. Bwe baali nga bakka okuva ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti, “Temubuulirako muntu yenna bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu.” Abayigirizwa be ne bamubuuza, nti, “Kale kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja?” Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, “Kituufu Eriya ajja ddala, era alirongoosa byonna; naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola nga bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu naye balimubonyaabonya.” Awo abayigirizwa ne bategeera nti yali ayogera nabo ku Yokaana Omubatiza. Bwe baatuuka awali ekibiina ky'abantu, omuntu n'ajja awali Yesu, n'amufukaamirira, ng'agamba nti, “Mukama wange, saasira omwana wange, kubanga agwa ensimbu, zimubonyabonya nnyo; emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi. N'amuleetedde abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.” Yesu n'abaddamu nti, “Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere wano.” Awo Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako, omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo. Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu kyama, ne bamubuuza nti, “Kiki ffe ekyatulobedde okumugoba?” Yesu n'abagamba nti, “Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono; kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; era tewali kigambo kye mutaliyinza. Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba.” Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti, “Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu; balimutta, ne ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo. Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa diderakima?” N'abaddamu nti, “Awa.” Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti, “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza ku bantu ki? Ku baana baabwe nantiki ku bannamawanga?” Peetero n'addamu nti, “Ku bannamawanga.” Yesu n'amugamba nti, “Kale abaana ba ddembe.” “Naye, tuleme okubesittaza, genda mu nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri; otwale eyo, ogibawe ku lwange ne ku lulwo.” Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?” Awo Yesu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe, n'agamba nti, “Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka ne mufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu. Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. Na buli alisembeza omwana omuto omu ng'ono mu linnya lyange ng'asembezezza nze.” “Naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja. Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza! Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko, okusuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi. Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi. Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu. Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.” “Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi (100), emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda (99), n'agenda ku nsozi, n'anoonya eyo ebuzeeko? Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda (99) ezitaabuze. Bwe kityo, si kigendererwa kya Kitange ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.” Muganda wo bw'akukola obubi, genda omubuulirire ggwe naye mwekka; bw'akuwulira, ng'ofunye muganda wo. Naye bw'atakuwulira, twala omuntu omu omulala oba babiri, era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu buli kigambo kikakasibwa. Era bw'agaana okuwulira abo, buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza. Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu, era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu. Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu. Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe. Awo Peetero n'ajja awali Yesu, n'amubuuza nti, “Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? Okutuusa emirundi musanvu?” Yesu n'amuddamu nti, “Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu, naye nti Okutuusa emirundi ensanvu (70) emirundi omusanvu (7). Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo gw'ebintu bye, n'abaddu be. Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta omutwalo gumu (10,000). Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja lisasulwe. Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti, ‘Mukama wange, mmanja mpola, nange ndikusasula byonna.’ Mukama w'omuddu oyo n'amusaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja. Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi (100), n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti, ‘Sasula ebbanja lyange.’ Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti, ‘Mmanja mpola, nange ndikusasula.’ N'atakkiriza naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja. Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddewo. Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira; naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?’ Mukama we n'asunguwala, n'amukwasa abambowa, amale okusasula ebbanja lyonna. Bw'atyo ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola mmwe, singa buli muntu tasonyiwa muganda we mu mutima gwe.” Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ava e Ggaliraaya, n'agenda mu kitundu ky'e Buyudaaya, emitala wa Yoludaani; ebibiina ebinene ne bimugoberera; n'abawonyeza eyo. Abafalisaayo ne bajja gy'ali, ne bamukema, nga bagamba nti, “Omuntu ayinza okugoba mukazi we ng'amulanga buli kigambo?” Yesu n'abaddamu nti, “Temusomangako nti oyo eyabatonda olubereberye nga yatonda omusajja n'omukazi, n'agamba nti, ‘Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?’ Olwo nga tebakyali babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawukanyanga.” Abafalisaayo ne bamubuuza nti, “Kale, lwaki Musa yalagira nti omusajja awe mukazi we ebbaluwa ey'okwawukana, alyoke amugobe?” Yesu n'abaddamu nti, “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe, naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo. Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula nga amulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze, n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.” Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Ebigambo eby'omusajja ne mukazi we bwe biba bwe bityo, si kirungi kuwasa.” Yesu n'abagamba nti, “Abantu bonna tebayinza kukkiriza kigambo ekyo, wabula abo abakiweebwa Katonda. Kubanga waliwo abalaawe abazaalibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannyaabwe; waliwo n'abalaawe abalaayibwa abantu, waliwo n'abalaawe, abeeraawa bokka olw'obwakabaka obw'omu ggulu. Ayinza okukikkiriza, akikkirize.” Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato, abasseeko emikono gye, abasabire: naye abayigirizwa ne babajunga ababaleeta. Naye Yesu n'agamba nti, “Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi; kubanga abali ng'abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.” N'abassaako emikono, n'avaayo. Laba, omuntu omu n'ajja eri Yesu, n'amubuuza nti, “Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n'obulamu obutaggwaawo?” Yesu n'amuddamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa eby'ekigambo ekirungi? Omulungi ali Omu, naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.” N'amubuuza nti, “Galuwa?” Yesu n'addamu nti, “Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko, era, Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” Omulenzi n'agamba Yesu nti, “Ebyo byonna nnabikwata, ekimpeebuuseeko ki ate?” Yesu n'amugamba nti, “Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo byonna, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu, olyoke ojje, ongoberere.” Omulenzi bwe yawulira ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina obugagga bungi. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu. Era nate mbagamba nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Abayigirizwa bwe baawulira ne beewuunya nnyo, ne bagamba nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?” Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti, “Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.” Awo Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera; kale tulifuna ki?” Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri (12), nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri. Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi (100), era alisikira n'obulamu obutaggwaawo. Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.” “Kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyakeera enkya okupakasa abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu. Bwe yamala okulagaana n'abalimi okubasasula eddinaali emu olunaku, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu. N'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde mu katale nga tebaliiko kye bakola; nabo n'abagamba nti, Nammwe mugende mukole mu lusuku olw'emizabbibu, nange nnaabasasula ekinaabasanira.” Ne bagenda. N'afuluma nate essaawa nga ziri mukaaga, era ne ku ssaawa mwenda, n'akola bw'atyo. Era n'afuluma ku ssaawa nga ziri kkumi n'emu, n'asanga abalala nga bayimiridde; n'abagamba nti, “Kiki ekibayimiriza wano obudde okuziba nga temuliiko kye mukola?” “Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tewali muntu eyatupakasizza.’ N'abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu lusuku olw'emizabbibu.’ Obudde bwe bwawungeera, nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba omusajja we alabirira abakozi nti, ‘Bayite abalimi, obawe empeera, ng'osookera ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye.’ Abo abaapangisibwa ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. Abo abaasooka okupangisibwa bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okusingawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. Bwe baagiweebwa, ne beemulugunyiza nnannyini lusuku, nga bagamba nti, ‘Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obenkanya naffe, abaateganye okuva enkya nga n'essana litwokya?’ Naye ye n'addamu n'agamba omu ku abo nti, ‘Munnange, sikukoze bubi; tewalagaanye nange eddinaali emu? Twala eyiyo, ogende; njagala okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe. Siyinza kukola byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya olw'obugabi bwange?’ Bwe batyo ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma.” Yesu bwe yali ng'ayambuka okugenda e Yerusaalemi, n'atwala abayigirizwa ekkumi n'ababiri kyama (12), n'abagambira mu kkubo nti, “Laba, twambuka tugenda e Yerusaalemi; n'Omwana w'omuntu aliweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; nabo balimusalira omusango okumutta, era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera, kyokka alizuukizibwa ku lunaku olwokusatu.” Awo nnyina w'abaana ba Zebbedaayo n'ajja gy'ali, n'abaana be, n'amusinza, n'abaako ky'amusaba. Yesu n'amugamba nti, “Oyagala ki?” N'amuddamu nti, “Lagira abaana bange bano bombi batuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo.” Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamugamba nti, “Tuyinza.” Yesu n'abagamba nti, “Ku kikompe kyange mulinywerako ddala; naye eky'okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula kiweebwa abo Kitange be yakuterekera.” Na bali ekkumi (10) bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda ababiri. Naye Yesu n'abayita bonna gy'ali, n'agamba nti, “Mumanyi ng'abafuzi b'amawanga babafuga, era abakulu baabwe babatwala n'amaanyi. Naye tekiibenga bwe kityo mu mmwe; naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe; na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe; nga Omwana w'omuntu bw'atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okuba ekinunulo eky'abangi.” Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga bafuluma mu Yeriko, ekibiina ekinene ne kimugoberera. Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu, nga bagamba nti, “Mukama waffe, omwana wa Dawudi, tusaasire.” Ekibiina ne kibaboggolera, nga kibagamba okusirika; naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti, “Mukama waffe, omwana wa Dawudi, tusaasire.” Awo Yesu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti, “Mwagala mbakolere ki?” Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, amaaso gaffe gazibuke.” Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe, amangwago ne balaba, ne bamugoberera. Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baasembera okumpi ne Yerusaalemi, ne batuuka e Besufaage, ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri (2), n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso, amangu ago munaalaba endogoyi esibiddwa, nga eri n'omwana gwayo; muzisumulule, muzindeetere. Naye omuntu bw'anaabagamba ekigambo, munaagamba nti, ‘Mukama waffe ye azaagala;’ naye anaaziweereza mangu ago.” Kino kyabaawo, ekigambo kituukirire nnabbi kye yayogera, ng'agamba nti, “Mubuulire muwala wa Sayuuni nti, Laba, Kabaka wo ajja gy'oli. Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi, Era yeebagadde n'akayana omwana gw'endogoyi.” Abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira, ne baleeta endogoyi, n'omwana gwayo, ne bazissaako engoye zaabwe; Yesu n'azituulako. Abantu bangi ab'omu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne batema amatabi ku miti, ne bagaaliira mu kkubo. Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava emabega, ne byogerera waggulu, ne bigamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi! Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama! Ozaana waggulu mu ggulu!” Awo bwe yayingira mu Yerusaalemi, ekibuga kyonna ne kikankanyizibwa nga abakirimu babuuza nti, “Ani ono?” Ebibiina ne bigamba nti, “Ono ye nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya.” Yesu n'ayingira mu Yeekaalu ya Katonda, n'agobera ebweru bonna abaali batundira mu Yeekaalu, n'avuunika embaawo ez'abaali bawaanyisa effeeza, n'entebe ez'abaali batunda enjiibwa; n'abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu;’ naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi.” Awo abazibe b'amaaso n'abalema ne bajja gy'ali mu Yeekaalu, n'abawonya. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba eby'amagero bye yakola, n'abaana abaayogerera waggulu mu Yeekaalu nga bagamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi;” ne banyiiga, ne bamugamba nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mpulira; temusomangako nti, ‘Mu kamwa k'abaana abato n'abawere otuukirizza ettendo?’ ” N'abaleka, n'afuluma mu kibuga, n'agenda e Bessaniya, n'asula eyo. Awo enkeera ku makya, Yesu bwe yali ng'addayo mu kibuga, enjala n'emuluma. N'alaba omutiini gumu ku mabbali g'ekkubo, n'agutuukako, n'asanga nga tekuli kintu, wabula amalagala ameereere; n'agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala emirembe n'emirembe.” Amangwago omutiini ne guwotoka. Abayigirizwa bwe baalaba, ne beewuunya, ne bagamba nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti Bwe munaabanga n'okukkiriza, nga temubuusabuusa, temuukolenga kino kyokka eky'omutiini, naye bwe muligamba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nnyanja, kirikolebwa. Ne byonna byonna bye munaayagalanga, bwe munaasabanga nga mukkirizza, munaabiweebwanga.” Yesu n'ayingira mu Yeekaalu, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja gy'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani eyakuwa obuyinza buno?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Nange ka mbabuuze ekigambo kimu, bwe munaakinzivuunula, era nange n'ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino. Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Mu ggulu nantiki mu bantu?” Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Mu ggulu,’ anaatugamba nti, ‘Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?’ Naye bwe tunaagamba nti, ‘Mu bantu;’ tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yokaana nga nnabbi.” Ne baddamu Yesu ne bamugamba nti, “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti, “Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.” “Naye mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri; n'ajja eri ow'olubereberye, n'amugamba nti Omwana, genda okole emirimu leero mu lusuku olw'emizabbibu. N'addamu n'agamba nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda. N'ajja eri ow'okubiri, n'amugamba bw'atyo. Naye n'addamu n'agamba nti, ‘Ka ŋŋende, ssebo,’ naye n'atagenda. Ku abo bombi ani eyakola kitaawe kyayagala Ne bamuddamu nti, ‘Ow'olubereberye.’ Yesu n'abagamba nti, ‘Mazima mbagamba nti abawooza n'abenzi babasooka mmwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Kubanga Yokaana yajja gye muli mu kkubo ery'obutuukirivu, nammwe temwamukkiriza, naye abawooza n'abenzi baamukkiriza; nammwe, bwe mwalaba bwe mutyo, era n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.’ “Muwulire olugero olulala. Waaliwo omuntu eyalina ennyumba ye, n'asimba olusuku olw'emizabbibu, n'alukomerako olukomera, n'alusimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'alusigira abalimi, n'atambula olugendo n'agenda mu nsi ey'ewala. Awo omwaka bwe gwali gunaatera okutuuka ebibala okwengera, n'atuma abaddu be eri abalimi, babawe ebibala bye. Naye abalimi ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, omulala ne bamukasuukirira amayinja. N'atuma nate abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye; ne baabakola nabo bwe batyo. Oluvannyuma n'abatumira omwana we, ng'agamba nti, ‘Banaawulira omwana wange.’ Naye abalimi bwe baalaba omwana ne bagamba bokka na bokka nti, ‘Ono ye musika; mujje, tumutte, tulye obusika bwe.’ Ne bamukwata, ne bamusindiikiriza mu lusuku olw'emizabbibu, ne bamutta. Kale, mukama w'olusuku olw'emizabbibu bw'alijja, alibakola atya abalimi abo?” Ne bamuddamu nti, “Abo ababi alibazikiriza bubi, naye olusuku olw'emizabbibu alirusigira abalimi abalala, abanaamuweerezanga ebibala byamu mu mwaka gwabyo.” Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako mu byawandiikibwa nti,” “‘Ejjinja abazimbi lye baagaana’” “ ‘Lye lyafuuka omutwe gw'ensonda;’” “‘Kino kyava eri Mukama,’” “‘Era kya kitalo mu maaso gaffe?’” “Kyenva mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.” Era agwa ku jjinja lino alimenyekamenyeka; n'oyo gwe lirigwako, lirimubetenta. Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo bwe baawulira engero ze, ne bategeera nti ayogedde ku bo. Nabo bwe baali baagala okukwata Yesu, ne batya ebibiina, kubanga byamulowooza okuba nnabbi. Awo Yesu n'addamu n'ayogera n'abo mu engero, n'agamba nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyizibwa omuntu eyali kabaka, eyafumbira omwana we embaga ey'obugole, n'atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga ey'obugole; naye ne batayagala kujja. N'atuma nate abaddu abalala, ng'agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti Laba, nfumbye embaga yange; ente zange n'eza ssava zittiddwa, ne byonna biteegekeddwa; mujje ku mbaga ey'obugole. Naye abo abaayitibwa ne batassaayo mwoyo ne bagenda, omu n'agenda mu kyalo kye, omulala mu by'obuguzi bwe, abaasigalawo ne bakwata abaddu be, ne babaswaza, ne babatta. Kabaka n'akwatibwa obusungu; n'asindika eggye lye, n'azikiriza abassi abo, n'ayokya ekibuga kyabwe. Awo n'agamba abaddu be nti ‘Embaga ey'obugole ewedde okuteekateeka, naye abo abaayitibwa tebasaanira. Kale mugende mu masaŋŋanzira g'enguudo, bonna be munaalabayo mubayite bajje ku mbaga ey'obugole.’ Abaddu bali ne bagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baalaba, ababi n'abalungi; ekisenge eky'embaga ey'obugole ne kijjula abagenyi. Naye kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya bugole. Kabaka n'amugamba nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga tolina kyambalo kya bugole? N'abunira.’ ” Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti, “Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji. Kubanga bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.” Awo Abafalisaayo ne bagenda, ne bateeseeza wamu nga bwe banaatega Yesu mu bigambo. Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, so tokolerera kusiimibwa muntu yenna; kubanga tososola mu bantu. Kale tubuulire, olowooza otya? Kirungi okuwa Kayisaali omusolo, oba si weewaawo?” Naye Yesu n'ategeera obubi bwabwe, n'agamba nti, “Munkemera ki, mmwe abannanfuusi? Mundage effeeza ey'omusolo.” Ne bamuleetera eddinaali. N'abagamba nti, “Ekifaananyi n'amannya ebiwandiikiddwako by'ani?” Ne bamugamba nti, “Bya Kayisaali.” Awo Yesu n'abagamba nti, “Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.” Bwe baawulira, ne beewuunya, ne bamuleka, ne bagenda. Ku lunaku olwo, Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira; ne bajja eri Yesu ne bamubuuza, nti, “Omuyigiriza, Musa yagamba nti, ‘Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we abaana.’ Awo ewaffe yaliyo ab'oluganda musanvu (7), ow'olubereberye n'awasa, n'afa naye nga tazadde mwana, mukazi we n'amulekera muganda we; bw'atyo n'owo kubiri, n'owo kusatu, okutuusa ku w'omusanvu. Oluvannyuma, bonna nga baweddewo, n'omukazi n'afa. Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.” Naye Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mukyama olw'obutamanya ebyawandiikibwa, newakubadde amaanyi ga Katonda. Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu. Naye eby'okuzuukira kw'abafu, temwasoma Katonda kye yabagamba nti, ‘Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.’ Si Katonda wa bafu, naye wa balamu.” Ebibiina bwe byawulira ebyo, ne byewuunya okuyigiriza kwe. Naye Abafalisaayo bwe baawulira nti abunizza Abasaddukaayo, n'abo ne bakuŋŋaanira wamu. Omu ku bo, ow'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti, “Omuyigiriza, ekiragiro ekikulu mu mateeka kye kiruwa?” Yesu n'amuddamu nti, “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye. N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.” Abafalisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza, ng'agamba nti, “Kristo mumulowooza mutya? Ye mwana w'ani?” Ne bamugamba nti, “Mutabani wa Dawudi.” N'abagamba nti, “Kale, Dawudi mu Mwoyo lwaki amuyita Mukama we, ng'agamba nti,” “‘Mukama yagamba Mukama wange nti’” “‘Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,’” “‘Okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w'ebigere byo.’” “Kale oba nga Dawudi amuyita Mukama we, abeera atya omwana we?” Ne wataba muntu eyayinza okumuddamu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewali muntu eyayaŋŋanga okumubuuza ekigambo nate. Awo Yesu n'ayogera n'ebibiina awamu n'abayigirizwa be, n'agamba nti, “Abawandiisi n'Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa; kale ebigambo byonna bye babagamba, mubikwate mubikole, naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola. Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; sso nga bo bennyini tebaagala wadde okuginyenyako n'engalo yaabwe. Naye ebikolwa byabwe byonna babikola, era abantu babirabe, kubanga bagaziya fulakuteri zaabwe, era bongerako n'amatanvuuwa gaabwe, era baagala ebifo eby'oku mwanjo ku mbaga, n'entebe ez'ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era baagala n'okulamusibwa mu butale, n'abantu okubayita nti Labbi. Naye mmwe temuyitibwanga Labbi, kubanga, Omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe, kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. So temuyitibwanga balagirizi, kubanga omulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo. Naye mu mmwe abasinga obukulu anaabanga muweereza wammwe. Na buli aneegulumizanga alitoowazibwa; na buli eyeetoowaza anaagulumizibwanga.” “Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalira obwakabaka obw'omu ggulu mu maaso g'abantu; kubanga mmwe temuyingira, n'abo ababa bayingira temubaganya kuyingira.” “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! Kubanga munyaga ennyumba za bannamwandu, era ne mwefuula abasaba ennyo; n'olwekyo mulibaako omusango ogusinga obunene.” “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mwetooloola mu nnyanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu, abe omugoberezi wammwe naye bwe mumala okumukyusa, mumufuula mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okusinga mmwe.” “Ziribasanga mmwe, abasaale abazibe b'amaaso, abagamba nti Buli anaalayiranga Yeekaalu, taba na musango; naye buli anaalayiranga ezaabu ey'omu Yeekaalu, ng'azzizza omusango. Mmwe abasiru era abazibe b'amaaso; kubanga ekisinga obukulu kiruwa, ezaabu, oba Yeekaalu efuula zaabu eyo okuba entukuvu? Era mugamba nti Omuntu bw'anaalayiranga ekyoto, nga talina musango; naye buli anaalayiranga ekitone ekikiriko, ng'azzizza omusango. Mmwe abazibe b'amaaso! kubanga ekisinga obukulu kiruwa, ekitone, oba ekyoto ekitukuza ekitone? Naye alayira ekyoto, alayira kyo ne byonna ebikiriko. Naye alayira Yeekaalu, alayira yo, era n'oyo agituulamu. N'oyo alayira eggulu, aba alayidde ntebe ya Katonda, ne Katonda agituulako.” “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby'amateeka, okubeera abenkanya, ekisa, n'okukkiriza; naye bino kyabagwanira okubikola, era na biri obutabirekaayo. Mmwe abasaale abazibe b'amaaso abasengejja ensiri, naye ne mumira eŋŋamira.” “Ziribasanga mmwe abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga munaaza kungulu ku kikompe n'ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n'obuteegendereza. Ggwe Omufalisaayo omuzibe w'amaaso, sooka onaaze munda mu kikompe ne mu kibya, ne kungulu kwabyo kulyoke kube kulungi.” “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa langi enjeru ne gatukula, agalabika kungulu nga ganyiridde, naye munda mujjudde amagumba g'abafu, n'empitambi yonna. Bwe mutyo nammwe kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n'obujeemu.” “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, era munyiriza ebiggya by'abatuukirivu, ne mugamba nti Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandissizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gwa bannabbi. Bwe mutyo ne mukakasa mwekka nti muli baana b'abo abatta bannabbi. Kale mumalirize bajjajjammwe kye baatandika. Mmwe emisota, abaana b'embalasaasa, mulidduka mutya omusango ogwa Ggeyeena? Laba, kyenva mbatumira bannabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi, n'abamu ku bo mulibatta mulibakomerera; n'abalala mulibakubira emiggo mu makuŋŋaaniro gammwe, mulibayigganya okubaggya mu kibuga ekimu okubazza mu kirala; mulyoke mubuuzibwe omusaayi gwonna ogw'abatuukirivu ogwayiika ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusa ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati wa Yeekaalu n'ekyoto. Mazima mbagamba nti Ebigambo bino byonna birituukirira eri abantu ab'emirembe gino.” “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gy'ali! emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w'ebiwaawaatiro byayo, naye ne mutayagala! Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa. Kubanga mbagamba nti Okusooka leero temulindabako n'akatono, okutuusa lwe mulyogera nti Aweebwe omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.” Yesu n'afuluma mu Yeekaalu; awo bwe yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga Yeekaalu. Naye n'abaddamu n'abagamba nti, “Temulaba bino byonna? Mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.” Yesu bwe yali ng'atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti, “Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero akaliraga okujja kwo bwe kaliba, era n'ak'emirembe gino okuggwaawo?” Yesu n'abaddamu nti, “Mulabe omuntu yenna tabakyamyanga. Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze Kristo;’ balikyamya bangi. Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo; mulabe temweraliikiriranga; kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng'ekyali. Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka, walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu. Naye ebyo byonna okubaawo ye ntandikwa y'okulumwa ng'okw'omukazi agenda okuzaala. Mmwe balibakwata ne babawaayo mubonyebonyezebwe, balibatta; nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange. Mu biro ebyo bangi abalyesittala, baliwaŋŋanayo, balikyawagana. Ne bannabbi bangi ab'obulimba balijja, balikyamya bangi. Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw'abasinga obungi kuliwola. Naye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa. n'Enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba obujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka etuuka.” “Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza, Danyeri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, oyo asoma bino ategeere, olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; aliba waggulu ku nju takkanga kuggyamu bintu ebiri mu nju ye; aliba mu lusuku taddanga nate kutwala kyambalo kye. Naye ziribasanga abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! Nammwe musabe Katonda ekiseera kyammwe eky'okuddukiramu kireme okuba mu biro eby'obutiti, newakubadde ku ssabbiiti. Kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, era tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate. Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri; naye olw'abalonde ennaku ezo zirisalibwako. Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti, ‘Laba, Kristo ali wano!’ oba nti, ‘Wano!’ temukkirizanga. Kubanga walijja bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba, n'abo balikola obubonero obukulu n'eby'amagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, oba nga kiyinzika. Laba, mbalabudde. Kale bwe babagambanga nti, ‘Laba, ali mu ddungu;’ temufulumanga, ‘laba, ali mu bisenge munda;’ temukkirizanga. Kubanga ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. Awaba omulambo wonna, awo ensega we zikuŋŋaanira.” Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi gulirekerawo okwaka, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa; olwo akabonero ak'Omwana w'omuntu kalirabika ku ggulu, n'ebika byonna eby'ensi birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene. Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, era n'okuva ku nkomerero y'eggulu emu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo endala. Okuva ku muti omutiini muguyigireko bino; ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'obudde bw'ekyeya bunaatera okutuuka; bwe mutyo nammwe, mu ngeri y'emu bwe mulabanga ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ali awo ku luggi. Mazima mbagamba nti emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe biribeerawo. Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala. Naye eby'olunaku luli n'ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka. Naye nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, bwe kityo bwe kiriba mu kujja kw'Omwana w'omuntu. Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka nga amataba tegannabaawo, baali nga balya nga banywa, nga bawasa era nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabasaanyaawo bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu. Mu biro ebyo abasajja babiri (2), baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. Abakazi babiri (2) baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'alijjirako. Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa amanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa. Mukale nammwe mweteeketeeke; kubanga Omwana w'omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu. “Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo? Omuddu oyo alina omukisa, mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna. Naye omuddu oyo omubi bw'aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde; era bw'alisooka okukuba baddu banne, n'okulya n'okunywera awamu n'abatamiivu; mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamusuubirirako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemamu ebitundu bibiri, alimuwa omugabo gwe awamu ne bannanfuusi, omwo mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji.” “Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa n'abawala ekkumi (10), abaakwata ettabaaza zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole. Naye bannaabwe abataano (5) baali basirusiru, n'abataano (5) be baalina amagezi. Kubanga abasirusiru, bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta; naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n'ettabaaza zaabwe. Awasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne beebaka. Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti, ‘Laba, awasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.’ Abawala bonna ekkumi (10) ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe. Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera.’ Naye abaalina amagezi ne baddamu, ne babagamba nti, ‘mpozzi tegaatumale fenna nammwe: waakiri mugende eri abatunda, mwegulireyo.’ Abawala abasirusiru bwe baali bagenda okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka; abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole; oluggi ne luggalwawo. Oluvannyuma abawala bali abasirusiru nabo ne bajja, ne bagamba nti, ‘Mukama waffe, mukama waffe, tuggulirewo.’ Naye Ye n'addamu n'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti sibamanyi.’ Kale mutunule, kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera.” “Obwakabaka obw'omuggulu bufaananako ng'omuntu eyali agenda okutambula mu nsi endala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye. N'awa omu ettalanta ttaano, omulala bbiri, omulala emu buli muntu ng'obusobozi bwe bwe bwali; n'agenda. Amangwago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala. Bw'atyo n'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri, n'aviisaamu bbiri endala. Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu effeeza ya mukama we. Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, mukama w'abaddu abo n'akomawo, n'abala nabo omuwendo. Omuddu eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti, ‘Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano; laba, n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.’ Mukama we n'amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi, yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri; laba, n'aviisaamu ettalanta bbiri endala.’ Mukama we n'amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi, yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ N'oli eyaweebwa ettalanta emu n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, nakumanya ng'oli muntu mukakanyavu ng'okungulira gy'otaasigira, ng'okuŋŋaanyiza gy'otaayiyira; ne ntya, ne ŋŋenda, ne ngikweka mu ttaka ettalanta yo, laba, eyiyo yino.’ Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti, ‘Oli muddu mubi mugayaavu! wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira; kale kyakugwanira okugiwa abasuubuzi effeeza yange, nange bwe nnandizze nandiweereddwa eyange n'amagoba gaamu. Kale mumuggyeeko ettalanta, mugiwe oli alina ettalanta ekkumi (10). Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi; naye atalina, aliggibwako na kiri kyali nakyo. N'omuddu oyo ataliiko ky'agasa mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okulumwa obujiji.’ ” “Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye. Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibaawulamu ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi, endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono. Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi; kubanga nnalina enjala ne mumpa eky'okulya, nnalina ennyonta ne munnywesa, nnali mugenyi ne munsuza; nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali musibe mu kkomera, ne mujja mundaba.’ Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? Oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa? Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukusuza? Oba ng'oli bwereere ne tukwambaza? Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tujja tukulaba?’ Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.’ Awo alibagamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be; kubanga nnalina enjala, temwampa kya kulya; nnalina ennyonta, temwannywesa, nnali mugenyi, temwansuza, nnali bwereere, temwannyambaza, mulwadde, ne mu kkomera, temwannambula.’ Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bwereere, oba mulwadde, oba mu kkomera, ne tutakuyamba?’ Awo alibaddamu, ng'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mutaakikolera omu ku abo abasinga obuto, temwakikolera nze.’ Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.” Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti, “Mumanyi nti oluvannyuma lw'ennaku bbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa.” Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwanga Kayaafa; ne bateeseeza wamu okukwata Yesu mu magezi; bamutte. Naye ne bagamba nti, “Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okwegugunga.” Awo Yesu bwe yali mu Bessaniya, mu nju ya Simooni omugenge, omukazi n'ajja gy'ali, eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi ennyo, n'agamufuka ku mutwe, ng'atudde alya. Naye abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga ne bagamba nti, “Gafudde ki gano? Kubanga gano singa gatundiddwa gandivuddemu ensimbi nnyingi, ne zigabirwa abaavu.” Naye Yesu bwe yategeera n'abagamba nti, “Mumunakuwaliza ki omukazi? Kubanga ankoze ekigambo ekirungi. Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; naye nze temuli nange bulijjo. Kubanga bw'afuse amafuta gano ku mubiri gwange, anziraze okunziika. Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.” Awo omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12), eyayitibwanga Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu, n'abagamba nti, “Mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli?” Ne bamusasula ebitundu bya ffeeza asatu (30). Okuva mu kiseera ekyo Yuda n'asookera awo okunoonya ebbanga bw'anaamuwaayo. Awo ku lunaku olusooka olw'Embaga eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'on'okuliira?” Yesu n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.’ ” Abayigirizwa be ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako. Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu n'atuula okulya n'abayigirizwa ekkumi n'ababiri (12). Baali balya, Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumubuuza nti, “Mukama wange, ye nze?” Yesu n'addamu n'agamba nti, “Oyo akozezza awamu nange mu kibya, ye anandyamu olukwe.” “Omwana w'omuntu agenda, nga bwe kyamuwandiikibwako; naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.” Yuda, eyamulyamu olukwe, n'addamu n'agamba nti, “Labbi, ye nze?” Yesu n'amugamba nti, “Ggwe oyogedde.” Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti, “Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange.” Ate n'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa ng'agamba nti, “Munywe ku kino mwenna; kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi. Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.” Bwe baamala okuyimba ne bafuluma okugenda ku lusozi olwa Zeyituuni. Awo Yesu n'abagamba nti, “Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino; kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa.’ Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” Naye Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Abalala bonna bwe baneesittala ku lulwo, nze seesittale n'akatono.” Yesu n'amugamba nti, “Mazima nkugamba nti Mu kiro kino, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” N'abayigirizwa abalala bonna ne boogera bwe batyo. Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano, nze ŋŋende eri nsabe.” N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atandika okunakuwala n'okweraliikirira ennyo. Awo n'abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku ya kitalo, egenda kunzita; mubeere wano, mutunule wamu nange.” N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti, “Ayi Kitange, oba kiyinzika ekikompe kino kinveeko; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.” N'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti, “Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu? Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa; omwoyo gwo gwagala naye omubiri gwe munafu.” Era n'agenda omulundi ogwokubiri, n'asaba, ng'agamba nti, “Ayi Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe.” Awo n'ajja nate n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Yesu n'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogwokusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri ebyasooka. Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti, “Era mukyebase n'okuwumulira ddala? Mulabe ekiseera kituuse, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi. Muyimuke tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.” Awo Yesu yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12), n'ajja ng'alina ekibiina ekinene ekirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu. Naye oyo eyalya mu Yesu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti, “Omuntu gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate.” Amangwago Yuda n'ajja awali Yesu, n'agamba nti, “Mirembe, Labbi!” N'amunywegera nnyo. Yesu n'amugamba nti, “Munnange, kola ky'ojjiridde.” Awo ne bajja, ne bavumbagira Yesu ne bamukwata ne bamunyweza. Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu. Awo Yesu n'amugamba nti, “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo; kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala. Olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika abasoba mu liigyoni ekkumi n'ebbiri (12)? Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo?” Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti, “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Nnatuulanga buli lunaku mu Yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata. Naye bino byonna bikoleddwa, bannabbi bye baawandiika bituukirizibwe.” Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira, ne badduka. Awo bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baali bakuŋŋaanidde. Naye Peetero yagoberera Yesu ng'amuvaako emabega wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira. Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte; ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne wajjawo babiri (2), ne bagamba nti, “Ono yagamba nti, ‘Nnyinza okumenya Yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu (3).’” Awo Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amubuuza nti, “Toyanukula n'akatono? Kigambo ki bano kye bakulumiriza?” Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti, “Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.” Yesu n'amugamba nti, “Oyogedde, naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.” Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti, “Avvodde Katonda, twagalira ki nate abajulirwa? Laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe. Mulowooza mutya?” Ne baddamu ne bagamba nti, “Agwanidde kufa.” Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso ge, ne bamukuba ebikonde; abalala ne bamukuba empi, nga bagamba nti, “Tulagule, Kristo, ani akukubye?” Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango, omuwala n'ajja gy'ali, n'amugamba nti, “Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya.” Naye Peetero ne yeegaanira mu maaso ga bonna, ng'agamba nti, “Ky'ogamba sikimanyi.” Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti, “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi.” Peetero ne yeegaana nate, n'alayira nti, “Omuntu oyo simumanyi.” Ne wayitawo ebbanga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti, “Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekuloopa.” Awo Peetero n'atandika okukolima n'okulayira nti, “Omuntu oyo simumanyi.” Amangwago enkoko n'ekookolima. Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaana emirundi esatu (3).” Awo Peetero n'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga. Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n'abakadde b'abantu ne bateeseeza wamu ku by'okutta Yesu; ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato owessaza. Awo Yuda, eyalya mu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu omusango gumusinze, ne yejjusa, n'addiza bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo asatu (30) ebya ffeeza, nga bw'agamba nti, “Nnayonoona okulyamu olukwe omusaayi ogutalina kabi.” Naye bo ne bamugamba nti, “Guno guli ku ffe? Musango gwo.” Effeeza n'azisuula mu Yeekaalu, n'afuluma, n'agenda yeetuga. Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu biri ebya ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okubiteeka mu ggwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwa musaayi.” Ne bateesa, ne bazigulamu olusuku lw'omubumbi, okuziikangamu abagenyi. Olusuku luli kyeruva luyitibwa olusuku lw'omusaayi, ne kaakano. Awo n'ekituukirira ekyayogerwa nnabbi Yeremiya ng'agamba nti, “Ne batwala ebitundu ebya ffeeza asatu (30), omuwendo abantu abamu ku baana ba Isiraeri gwe baamulamulamu; ne babigulamu olusuku lw'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.” Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'owessaza; owessaza n'amubuuza ng'agamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti, “Oyogedde.” Wadde Bakabona abakulu n'abakadde baamuloopa, naye ye n'ataddamu n'akatono. Awo Piraato n'amugamba nti, “Towulira bigambo bino byonna bye bakulumiriza bwe biri?” Naye Yesu teyamuddamu na kigambo na kimu; owessaza n'okwewuunya ne yeewuunya nnyo. Naye ku mbaga ejjukirirwako Okuyitako, ow'essaza yalina empisa okusumululiranga ekibiina omusibe omu, gwe baayagalanga. Era mu biro ebyo baalina omusibe eyali amanyiddwa ennyo ayitibwa Balaba. Awo bwe baakuŋŋaana, Piraato n'abagamba nti, “Aluwa gwe mwagala mbasumululire? Balaba, oba Yesu ayitibwa Kristo?” Kubanga yamanya nga bamuweesezzaayo buggya. Naye bwe yatuula ku ntebe esaalirwako emisango, mukazi we n'amutumira, ng'agamba nti, “Omuntu oyo omutuukirivu tomukolako kabi n'akatono, kubanga olwaleero nnalumiddwa bingi mu kirooto ku lulwe.” Naye bakabona abakulu n'abakadde ne bafukuutirira ebibiina okusaba Balaba, bazikirize Yesu. Naye owessaza n'addamu n'ababuuza nti, “Ku abo bombi aluwa gwe mwagala mbasumululire?” Ne baddamu nti, “Balaba.” Piraato n'abagamba nti, “Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo?” Bonna ne baddamu nti, “Akomererwe.” Piraato n'ababuuza nti, “Lwaki? Ekibi ky'akoze kiruwa?” Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti, “Akomererwe.” Naye Piraato bwe yalaba nga taasobole n'akatono, era nga bayinze okukaayana, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina ng'agamba nti, “Nze siriiko kabi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu; musango gwammwe.” Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe, ne ku baana baffe.” Awo Piraato n'abasumululira Balaba, naye Yesu n'amukuba enkoba n'alyoka amuwaayo okukomererwa. Awo basserikale b'owessaza ne batwala Yesu mu kigango eky'emisango, ne bamukuŋŋaanyizaako ekitongole kyonna. Ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza olugoye olumyufu. Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, ne bamukwasa n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamuwandira amalusu, ne batoola olumuli luli ne bamukuba mu mutwe. Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye luli olumyufu, ne bamwambaza ebyambalo bye, ne bamutwala okumukomerera. Awo bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukuleene, erinnya lye Simooni; ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwa Yesu. Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo kifo kya kiwanga, ne bawa Yesu omwenge okunywa ogutabuddwamu omususa; naye bwe yalegako, n'atayagala kunywa. Bwe baamala okumukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu; ne batuula awo ne bamukuuma. Ne bassa waggulu ku mutwe gwe omusango ogumuvunaanibwa, nga guwandiikiddwa nti, “ONO YE YESU KABAKA W'ABAYUDAAYA.” Awo abanyazi babiri (2) ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. N'abantu abaali bayitawo ne bamuvuma, nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti, “Ggwe amenya Yeekaalu, n'ogizimbira ennaku essatu (3), weerokole! oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke.” Bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde ne baduula bwe batyo, nga bagamba nti, “ Yalokolanga balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza.” “Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala, kubanga yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ” Abanyazi abaakomererwa naye era nabo ne bamuvuma bwe batyo. Awo okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda. Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti, “Eri, Eri, lama sabakusaani?” Amakulu gaakyo nti, “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?” Abamu ku baali bayimiridde awo, bwe baawulira, ne bagamba nti, “Omusajja ono ayita Eriya.” Amangwago munnaabwe omu n'adduka, n'atoola ekisuumwa, n'akijjuza omwenge omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amunywesa. Naye abalala ne bagamba nti, “Leka tulabe oba nga Eriya anajja okumulokola.” Naye Yesu n'ayogerera nate waggulu n'eddoboozi ddene, n'ata omwoyo gwe. Laba, olutimbe olwali mu Yeekaalu ne luyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika; entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa; ne bava mu ntaana. Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, abantu bangi ne ba balaba. Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti, “Mazima ono abadde Mwana wa Katonda!” Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, era abaamuweerezanga abaayimirira ewalako nga balengera; mu abo mwalimu Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo ne Yose, ne nnyina w'abaana ba Zebbedaayo. Naye obudde bwali buwungeera, omusajja omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu najja, era naye yali muyigirizwa wa Yesu. Oyo n'agenda eri Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato n'alagira okugumuwa. Yusufu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu bafuta enjeru, n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi; n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda. Malyamu Magudaleene, ne Malyamu omulala, baali nga batudde awo mu maaso g'entaana. Naye enkeera, lwe lunaku olwaddirira olw'okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato, ne bagamba nti, “Omwami, tujjukidde omulimba oyo ng'akyali mulamu, yagamba nti, ‘Ennaku bwe ziriyitawo essatu ndizuukira.’ Kale nno lagira bakuumire ddala entaana okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kujja kumubbamu, bagambe abantu nti, ‘Azuukidde mu bafu,’ era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka.” Piraato n'abagamba nti, “Mulina abakuumi; mugende, mugakuumire ddala nga bwe muyinza.” Nabo ne bagenda, ne bagakuumira ddala entaana, ejjinja ne balissaako akabonero, ne balekawo abakuumi. Awo olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olwolubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu omulala ne bagenda okulaba entaana. Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja n'aliggyawo, era n'alituulako. Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira. era entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde. Naye malayika n'agamba abakazi nti, “Mmwe temutya; kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa. Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo we yagalamizibwa. Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; eyo gye mulimulabira, laba, mbabuulidde.” Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa naye nga balina essanyu lingi, ne badduka okubuulira abayigirizwa be. Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti, “Mirembe.” Ne bajja ne bakwata ku bigere bye, ne bamusinza. Awo Yesu n'abagamba nti, “Temutya, mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira.” Abakazi bwe baali bagenda, laba abakuumi abamu ne bajja mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebibaddewo. Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne bawa abasserikale effeeza nnyingi, ne babagamba nti, “Mugambanga nti, ‘Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase.’ Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa owessaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango.” Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba; ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, n'okutuusa leero. Awo abayigirizwa ekkumi n'omu (11) ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabalagira. Bwe baamulaba ne bamusinza; naye abalala ne babuusabuusa. Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende, mufuule abantu b'amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe. Era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” Okusooka kw'Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda. Nga bwe kyawandiikibwa nnabbi Isaaya nti, “Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo; Eddoboozi lye ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge;” Yokaana Omubatiza yajja mu ddungu, n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggyibwako ebibi. N'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'e Yerusaalemi bonna ne bavaayo ne bajja gy'ali n'ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, ne yeesibanga olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko. N'abuulira ng'agamba nti, “Oluvannyuma lwange waliwo ajja, ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula bukoba bwa ngatto ze. Nze mbabatiza n'amazzi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu.” Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja n'abatizibwa Yokaana mu mugga Yoludaani. Bwe yali yakava mu mazzi, amangwago Yesu n'alaba eggulu nga libikkuse n'Omwoyo ng'amukkako ng'ejjiba; n'eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.” Amangwago Omwoyo n'asindika Yesu mu ddungu. N'abeera mu ddungu ennaku ana (40) ng'akemebwa Setaani; n'aba wamu n'ensolo; ne bamalayika nga bamuweereza. Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira Enjiri ya Katonda, ng'agamba nti, “Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize Enjiri.” Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya, Yesu n'alaba Simooni ne Andereya muganda we nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi. Yesu n'abagamba nti, “Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b'abantu.” Amangwago ne baleka awo obutimba ne bamugoberera. Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbedaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe. Amangwago n'abayita: ne baleka awo kitaabwe Zebbedaayo mu lyato ng'ali n'abo abakolera empeera, ne bamugoberera. Ne bayingira mu Kaperunawumu; amangwago ku lunaku lwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza. Ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi. Amangwago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko omwoyo omubi; n'akaaba nga agamba nti, “ Otwagaza ki Yesu ow'e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe, ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.” Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “Bunira, muveeko.” Awo omwoyo omubi ne gumusikambula ne gukaaba n'eddoboozi ddene ne gumuvaako. Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Kiki kino? Kuyigiriza kuggya, alagira n'obuyinza n'emyoyo emibi ne gimuwulira!” Amangwago ettutumu lye ne libuna ensi yonna eriraanye Ggaliraaya. Amangwago bwe baava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda wamu ne Yakobo ne Yokaana mu nnyumba ya Simooni ne Andereya. Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'agalamidde ng'alwadde omusujja. Amangwago ne bamubuulira bw'ali. N'ajja n'amukwata ku mukono n'amugolokosa, omusujja ne gumuwonako, n'abaweereza. Awo olweggulo, enjuba ng'egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abo abaaliko dayimooni. Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku wankaaki. N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba baddayimooni bangi, n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya. Awo mu makya ennyo, ng'obudde tebunnalaba, Yesu n'agolokoka n'afuluma, n'agenda mu kifo eteri bantu n'asabira eyo. Simooni n'abo abaali naye ne bamugoberera, ne bamulaba ne bamugamba nti, “Bonna bakunoonya.” N'abagamba nti, “Tugende awalala mu bibuga ebituliraanye, mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira.” N'ayingira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonna, ng'abuulira ng'agoba baddayimooni. Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamiridde, ng'amugamba nti, “Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.” N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'amugamba nti, “Njagala, longooka.” amangwago ebigenge bye ne bimuwonako n'alongooka. N'amukuutira nnyo, amangwago n'amusiibula ng'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyanjule eri kabona, era oweeyo olw'okulongooka kwo ekyo Musa kye yalagira okukakasa abantu nti olongoose.” Naye n'afuluma, n'agenda nga akyogerako, ng'asaasaanya amawulire ago, ne Yesu n'atayinza kuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye n'abeera mu bifo ebyekusifu; n'abantu ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna. Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju. Ne bakuŋŋaana bangi, ne wataba na kifo we bagya newakubadde mu mulyango: n'ababuulira ekigambo. Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse abasajja bana. Naye bwe baalemwa okumuyingiza olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali; ne bawummulawo ekituli ne bassa ekitanda akoozimbye kwe yali agalamidde. Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti, “Mwana wange, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Naye waaliwo abawandiisi abamu nga batudde ne balowooza mu mitima gyabwe nti, “Ono kiki ekimwogeza bw'atyo? Avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” Amangwago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga be buuzaganya bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti, “Lwaki mwebuuzaganya bwe mutyo mu mitima gyammwe? Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti, Ebibi byo bikusonyiyiddwa oba okugamba nti, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule? Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi,” n'agamba eyali akoozimbye nti, “Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.” N'agolokoka, amangwago ne yeetikka ekitanda kye, n'afuluma nga bonna balaba. Awo bonna ne beewuunya ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “Tetulabangako kintu bwe kiti.” Awo Yesu n'agenda nate ku lubalama lw'ennyanja; ekibiina ky'abantu ne kijja w'ali, n'abayigiriza. Awo bwe yali ng'atambula ku lubalama, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde we yasoloolezanga omusolo, n'amugamba nti, “ Ngoberera.” N'agolokoka n'amugoberera. Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba ya Leevi ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi baali batudde ne Yesu n'abayigirizwa be: kubanga bangi abaali bamugoberedde. Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba Yesu ng'aliira wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “ Lwaki aliira wamu n'abawooza n'abalina ebibi?” Awo Yesu bwe yakiwulira n'abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.” Awo abayigirizwa ba Yokaana n'ab'Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo basiiba, naye nga abayigirizwa bo tebasiiba?” Yesu n'abagamba nti, “Abagenyi ba wasizza omugole bayinza batya akusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? Bwe baba nga bakyali n'awasizza omugole, tebayinza kusiiba. Naye ennaku zirituuka, awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba ku lunaku olwo. Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bw'akola bwatyo ekiwero ekiggya kikutula ekikadde, ekituli ne kyeyongera. Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge guyiika n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.” Awo lumu ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ayita mu nnimiro, abayigirizwa be ne batandika okugenda nga banoga ebirimba. Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Laba, Lwaki bakola ekyo ekitakkirizibwa ku lunaku lwa ssabbiiti?” Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yali nga yeetaaga, n'alumwa enjala ye n'abo be yali nabo? Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo?” N'abagamba nti, “Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti. Bwe kityo Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.” N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. Ne bamutunulira nnyo okulaba oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, balyoke bamuwawaabire. Awo Yesu n'agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati awo.” Awo n'abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola obubi? kuwonya bulamu oba kutta?” Naye ne basirika busirisi. Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N'agugolola: omukono gwe ne guwona. Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n'Abakerodiyaani ku ye, nga bwe banaamuzikiriza. Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ekibiina kinene ekyava e Ggaliraaya ne kimugoberera; era n'abalala ne bava mu Buyudaaya n'e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'okwetooloola Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali. N'agamba abayigirizwa be bamusembereze eryato limubeerenga kumpi ekibiina kireme okumunyigiriza; kubanga yawonya bangi, ne bonna abalina endwadde bali benyigiriza bamukwateko bawonyezebwe. Era emyoyo emibi buli lwe gyamulabanga ne gigwa mu maaso ge ne gikaaba nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye n'agikomako gireme okumwatuukiriza. Awo n'alinnya ku lusozi n'ayita abo be yayagala, ne bajja gy'ali. N'alondamu kkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira n'okuba n'obuyinza okugobanga emizimu. Yalonda Simooni n'amutuuma erinnya Peetero; ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo: bano n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti, “Baana ba kubwatuka.” ne Andereya ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo, ne Simooni Omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. N'ajja mu nnyumba, ekibiina ne kikuŋŋaana nate, n'okuyinza ne batayinza na kulya mmere. Awo ababe bwe baawulira ne bafuluma okumukwata, kubanga abantu baali bagamba nti, “Alaluse.” Naye abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli, era agoba dayimooni ku lwo mukulu wa badayimooni oyo.” N'abayita gy'ali, n'abagambira mu ngero nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? Obwakabaka bwe bwawukanamu bwo bwokka, obwakabaka obwo tebuyinza kuyimirira. N'ennyumba bw'eyawukanamu yo yokka, ennyumba eyo teriyinza kuyimirira. Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, wabula aba yeezikiriza yekka. Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye. Mazima, mbagamba nti, Abaana b'abantu balisonyiyibwa ebibi byabwe byonna, n'obuvvoozi bwabwe bwe balivvoola bwonna; naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye aba azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe.” Yesu yayogera bwati kubanga baayogera nti, “Aliko omwoyo omubi.” Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru. N'ekibiina kyali kitudde nga bamwetoolodde; ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo bali wabweru bagala okukulaba.” N'abaddamu ng'agamba nti, “Ani mmange ne baganda bange be baani?” Awo ne yeetoolooza amaaso ku baali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti, “ Laba mmange ne baganda bange! Kubanga buli muntu yenna akola Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.” Ate n'atandika okuyigiriza ku lubalama lw'ennyanja. Ekibiina kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w'ali, kyeyava alinnya mu lyato, n'atuula mu lyo ku nnyanja, kyo ekibiina ne kibeera ku lubalama lwe nnyanja. N'abayigiriza bingi mu ngero, n'abagamba mu kuyigiriza kwe nti, “Muwulire; omusizi yafuluma okusiga: awo olwatuuka bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. N'endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi; amangwago ne zimera, kubanga ettaka teryali ggwanvu: enjuba bwe yayaka, ne ziwotookerera; era kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. Endala ne zigwa mu maggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala. Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne zizaala okutuusa asatu, era okutuusa enkaaga, era okutuusa ekikumi.” N'agamba nti, “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.” Awo bwe yali yekka, abo abaali bamwetoolodde n'ekkumi n'ababiri ne bamubuuza ku ngero ezo. N'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda, naye bali ab'ebweru byonna bibabeerera mu ngero: Babe nga balaba naye nga tebeteegereza, babe nga bawulira naye nga tebategeera; sikulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.” N'abagamba nti, “Temutegeera lugero luno? Kale mulitegeera mutya engero zonna? Omusizi asiga kigambo. Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangwago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo. Ne bano bwe batyo be bali abasigibwa awali olwazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangwago bakikkiriza n'essanyu; ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangwago nga bagwa. N'abalala be bali abasigibwa mu amaggwa; abo, bwe bawulira ekigambo, awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala. N'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala asatu (30), n'enkaaga (60), n'ekikumi (100).” N'abagamba nti, “Ettaala ereetebwa okuteekebwa munda mu kibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo? Kubanga tewali ekikwekebwa, ekitalimanyibwa, oba ekikisibwa, ekitalirabika mu lwatu. Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.” N'abagamba nti, “Mwekuume kye muwulira: mu kigera mwe mugera nammwe mwe muligererwa: era mulyongerwako. Kubanga alina aliweebwa: n'atalina aliggibwako n'ekyo kyali nakyo.” N'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda buli ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka; ne yeebaka n'agolokoka ekiro n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, ye nga tamanyi bw'emeruse. Ensi ebala yokka, okusooka kalagala, ate kirimba, ate ŋŋaano enkulu mu kirimba. Naye emmere bw'eyengera, amangwago assaako ekiwabyo, kubanga okukungula kutuuse.” N'agamba nti, “Kiki kye tunaageraageranya n'obwakabaka bwa Katonda? Oba tukozesa lugero ki okubunnyonnyola? Bufaanana ng'akaweke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu ttaka, newakubadde nga ke katono okukira ensigo zonna eziri mu nsi, naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene; ennyonyi ez'omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.” N'abagamba ekigambo mu ngero nnyingi ng'ezo, nga bwe bayinza okukiwulira; teyayogera nabo awatali lugero, naye bwe yaba nga yekka n'abayigirizwa be n'abannyonnyola byonna. Awo ku lunaku olwo bwe bwali buwungedde, n'abagamba nti, “Tuwunguke tutuuke emitala eri.” Abayigirizwa ne baleka ekibiina, ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye nga bwe yali. Era n'amaato amalala gaali naye. Awo omuyaga mungi ne gujja, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato ne litandika okujjula amazzi. Yesu ye yali mabega mu lyato nga yeebase ku mutto, ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tofaayo nga tufa?” N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti, “Sirika, teeka.” Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo. N'abagamba nti, “Kiki ekibatiisa? Temunnaba kuba na kukkiriza?” Ne batya nnyo, ne bagambagana nti, “Kale ono ye ani, omuyaga n'ennyanja gwe bigondera?” Ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasene. Bwe yava mu lyato, amangwago omuntu eyaliko omwoyo omubi naava mu malaalo najja n'amusisinkana. Omusajja ono yasulanga mu malaalo, nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegere, kubanga emirundi mingi baagezangako okumussa mu masamba, n'okumusiba mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya. Ne wataba muntu wa maanyi asobola okumunyweza. Naye bulijjo, ekiro n'emisana, yakaabiranga mu malaalo ne ku nsozi, era nga bwe yeesalaasala n'amayinja. Awo bwe yalengera Yesu ng'akyali wala ko n'adduka n'atuuka awali Yesu n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene ng'agamba nti, “Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda, Ali waggulu ennyo? Nkulayiza Katonda, tombonereza.” Kubanga Yesu yali amaze okugamba nti, “Va ku muntu ono, ggwe omwoyo omubi.” Awo Yesu n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'addamu nti, “Erinnya lyange nze Liigyoni; kubanga tuli bangi.” N'amwegayirira nnyo aleme okubagoba mu nsi eyo. Awo ku lusozi waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nnyo nga zirya. N'amwegayirira, ng'amugamba nti, “tusindike mu mbizzi tuziyingiremu.” Yesu n'akkiriza. Awo emyoyo emibi ne giva mu musajja ne giyingira mu mbizzi. Awo eggana ly'embizzi lyonna ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga ne lyeyiwa mu nnyanja. Embizzi zonna ezaali nga enkumi bbiri (2,000), ne zifiira mu nnyanja. Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri. Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko baddayimooni abangi ng'atudde, ng'ayambadde era ng'ategeera bulungi, ne batya nnyo. Abo abaalaba ebyaliwo ne babannyonnyola ebyali bituuse ku musajja oyo eyaliko dayimooni, era ne ku mbizzi. Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe. Awo bwe yali ng'alinnya mu lyato okugenda, omusajja eyaliko baddayimooni n'amwegayirira agende naye. Naye Yesu n'agaana, n'amugamba nti, “Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by'akukoledde, ne bw'akusaasidde.” Awo omusajja n'agenda, n'atandika okutegeeza abantu mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Abantu bonna ne beewuunya. Awo Yesu bwe yawunguka nate mu lyato n'atuuka emitala, ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali ku lubalama lw'ennyanja. Awo omu ku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, erinnya lye Yayiro, bwe yalaba Yesu n'ajja n'avuunama ku bigere bye, n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti, “ Muwala wange omuto abulako katono okufa, nkwegayirira jjangu omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke.” Awo Yesu n'agenda naye; ekibiina ekinene ne kimugoberera nga kigenda kimunyigiriza. Awo mu kibiina ekyo mwalimu omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12). Yali yeewubye ennyo mu basawo bangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala. Bwe yawulira ebigambo bya Yesu, bw'atyo n'ajja nga yeenyigiriza mu kibiina n'atuuka emabega wa Yesu n'akoma ku kyambalo kye. Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Bwe nkomako obukomi ku byambalo bye, nnaawona.” Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi n'ekikalira, n'awulira mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa obulwadde bwe. Amangwago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'abuuza nti, “Ani akomye ku byambalo byange?” Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankomyeko?’ ” Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso okulaba oyo amukutteko. Naye omukazi bwe yamanya ekimutuseeko, n'ajja eri Yesu ng'atidde nnyo era ng'akankana, n'agwa mu maaso ge, n'amubuulira amazima gonna. Yesu n'amugamba nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe, owonere ddala obulwadde bwo.” Awo bwe yali akyayogera, abaava mu maka ga Yayiro ne bajja, ne bagamba Yayiro nti, “Omuwala wo afudde. Oteganyiza ki nate Omuyigiriza?” Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku bigambo ebyogeddwa wabula n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, kkiriza bukkiriza.” Awo Yesu n'agaana abalala bonna okugenda naye okuggyako Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo. Ne batuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'alaba okwaziirana, n'abakaaba, n'abakuba ebiwoobe ebingi. Awo bwe yayingira n'abagamba nti, “Kiki ekibaaziiranya n'ekibakaabya? Omuwala tafudde, naye yeebase bwe basi!” Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye n'abagamba bonna bafulume mu nju. N'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abayigirizwa abaali naye, n'ayingira nabo mu kisenge omuwala mwe yali. Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amugamba nti, “Talisa kkumi;” ekitegeeza nti, “Omuwala, nkugamba nti Golokoka.” Amangwago omuwala n'agolokoka, n'atambula. Omuwala oyo yali aweza emyaka kkumi n'ebiri (12). Amangwago abaaliwo ne bawuniikirira nnyo. Yesu n'abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n'alagira okuwa omuwala eky'okulya. Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja mu nsi y'ewaabwe, ng'ali n'abayigirizwa be. Awo ku ssabbiiti n'agenda mu kkuŋŋaaniro n'atandika okuyigiriza. Abantu bangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Omusajja ono bino byonna yabiyigira wa? Magezi ki ono ge yaweebwa n'eby'amagero eby'enkanidde wano by'akola? Si y'ono omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? era ne bannyina tetubeera nabo kuno okwaffe?” Ne bamwesittalako. Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi ye waabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye.” Era teyakolerayo ky'amagero kyonna, okuggyako okussa emikono gye ku balwadde batono, n'abawonya. Ne yeewuunya olw'obutakkiriza bwabwe. Awo n'agenda nga ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo. Awo Yesu n'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atandika okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku mwoyo emibi. N'abalagira obutatwala kintu kyonna gye bagenda okuggyako omuggo gwokka, si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ensimbi mu lukoba. Bambale engatto naye tebatwala kkanzu bbiri. N'abagamba nti, “Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo. Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, ekitalibawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gyebali.” Ne bagenda ne babuulira okwenenya. Ne bagoba baddayimooni bangi, ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya. Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lya Yesu lyali lyatiikiridde; n'agamba nti, “Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye.” Naye abalala ne bagamba nti, “Ye Eriya.” Abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng'omu ku bannabbi.” Naye Kerode, bwe yawulira n'agamba nti, “ Yokaana gwe nnatemako omutwe nze, ye azuukidde.” Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo gwe yawasa. Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “ Si kituufu ggwe okutwala mukazi wa muganda wo.” Kerodiya n'ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza, kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga omuntu omutuukirivu era omutukuvu, n'amwekuuma. Kerode yayagalanga nnyo okuwulira Yokaana by'ayogera; naye ate byamulekanga nga tamanyi kya kukola. Naye olunaku lwali lumu Kerodiya n'afuna oluwenda okutuukiriza kye yali yayagala edda okukola. Olwali olwo Kerode n'afumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'amazaalibwa ge, n'ayita abakungu be n'abakulu b'abaserikale n'abaami bonna abakulu mu Ggaliraaya. Awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti, “Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa.” N'amulayirira nti, “Kyonna kyonna ky'ononsaba, nnaakikuwa, newakubadde ekitundu eky'obwakabaka bwange.” Awo omuwala n'afuluma, n'agamba nnyina nti, “ Nsabe ki?” N'agamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.” Awo omuwala amangwago n'addayo eri kabaka, n'amusaba ng'agamba nti, “Njagala ompe kaakano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lutiba.” Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya nga baawulira, n'atayagala kumenyawo kigambo kye yali agambye omuwala. Kale amangwago kabaka n'atuma sserikale omumbowa, n'alagira okuleeta omutwe gwa Yokaana. N'agenda n'amutemerako omutwe mu kkomera, n'aleetera omutwe gwe mu lutiba, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina. Awo abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguziika mu ntaana. Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza. N'abagamba nti, “ Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono.” Kubanga waaliwo abantu bangi abali bajja gyebali nga n'abalala bagenda, ne babulwa n'akaseera ak'okuliiramu ku mmere. Nebalinnya mu lyato bokka ne bagenda mu kifo eteri bantu. Naye abantu bangi ne ba balaba nga bagenda, ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne badduka okwetooloola ku lukalu, ne babasookayo. Awo Yesu bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba, n'atandika okubayigiriza ebintu bingi. Awo obudde bwe bwali buyise, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu, ne kaakano obudde buyise: basiibule, bagende mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano bagende beegulire emmere.” Naye n'addamu, n'abagamba nti, “Mmwe mubawe emmere.” Ne bamugamba nti, “ Tugende tugule emigaati egy'eddinaali ebibiri (200) tugibawe balye?” N'abagamba nti, “ Mulina emigaati emeka?” Mugende mulabe. Bwe baategeera ne bagamba nti, “Etaano, n'ebyennyanja bibiri.” N'abalagira batuule bonna bibiina bibiina ku muddo. Ne batuula nnyiriri nnyiriri, ekikumi (100), n'ataano (50). N'akwata emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula waggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagisse mu maaso ga bali; n'ebyennyanja bibiri n'abigabira bonna. Ne balya bonna ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw'emigaati n'obw'ebyennyanja ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri (12). Abo abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano (5,000). Amangwago Yesu n'agamba abayigirizwa be basaabale mu lyato, bawunguke bagende emitala w'ennyanja e Besusayida, ye amale okusiibula ebibiina. Awo bwe yamala okubasiibula, n'agenda ku lusozi okusaba. Awo bwe bwali buwungedde, eryato lyali mu nnyanja mu buziba, ye yali yekka ku lukalu. Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwali gubafulumye mu maaso, mu kisisimuka ekyokuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa: naye bo, bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne balowooza nti kifaananyi, ne bakaaba; kubanga bonna baamulaba, ne beeraliikirira. Naye amangwago n'ayogera nabo, n'abagamba nti, “ Mugume omwoyo, nze nzuuno, temutya.” N'alinnya mu lyato mwe baali, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo. Tebategeera eby'emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu. Awo bwe baawunguka, ne batuuka mu nsi ey'e Genesaleeti, ne bagoba ettale. Awo bwe baava mu lyato, amangwago abantu ne bamutegeera, ne badduka ne beetooloola mu nsi eyo yonna, ne batandika okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga wali. Ne buli gye yagendanga, mu mbuga, oba mu bibuga, oba mu byalo, bassanga abalwadde mu butale, ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'olugoye lwe: n'abo abaamukomangako ne bawona. Awo Abafalisaayo n'abawandiisi abamu, abaava e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu. Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya emmere n'engalo embi, okugamba, ze zitanaabiddwa. Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonna, tebaalyanga mmere nga tebamaze kunaaba nnyo ngalo zaabwe, nga obulombolombo obw'abakadde bwe bulagira. Era bwe bavanga mu katale, nga tabasobola kulya nga tebannaba kwetukuza; era waliwo n'ebirala bingi bye baaweebwa okukwata, okunaazanga ebikompe, n'ebibya, n'entamu ez'ebikomo. Awo Abafalisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo obw'abakadde, naye ne balya emmere n'engalo embi? ” N'abagamba nti, Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, Naye emitima gyabwe gindi wala. Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.” Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw'abantu. N'abagamba nti, “Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bwammwe. Kubanga Musa yayogera nti, ‘Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko; era nti Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi,’ naye mmwe mwogera nti, ‘Omuntu bw'agamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa ye Kolubaani’ (ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda), temukyamuganya okukolera ekintu kitaawe oba nnyina; mudibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe, bwe mwayigiriza: era mukola ebigambo ebirala bingi ng'ebyo.” Awo Yesu n'ayita ebibiina, n'abagamba nti, “Mumpulire mwenna, mutegeere; tewali kintu ekiri ebweru w'omuntu bwe kiyingira mu ye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiva mu muntu, ebyo bye byonoona omuntu. Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.” Awo bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu bibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza olugero olwo. N'abagamba nti, “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temutegeera nti, kyonna ekiri ebweru bwe kiyingira mu muntu, tekiyinza kumwonoona; kubanga tekiyingira mu mutima gwe, naye mu lubuto lwe, ne kiyita ne kigenda mu kabuyonjo?” Yayogera bw'atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonna. N'agamba nti, “Ekiva mu muntu, kye kyonoona omuntu. Kubanga munda, mu mitima gy'abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusiru: ebibi ebyo byonna biva munda, ne byonoona omuntu.” Awo Yesu n'avaayo n'agenda mu bitundu bye Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba, n'atayagala muntu kutegeera, naye ne kitasoboka. Naye amangwago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye. Omukazi yali Muyonaani, eggwanga lye Musulofoyiniiki. N'amwegayirira okugoba dayimooni ku muwala we. Yesu n'agamba omukazi nti, “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa.” Naye omukazi n'amuddamu nti, “Weewaawo, Mukama wange: n'embwa ziriira wansi w'emmeeza obukunkumuka bw'abaana.” Yesu n'amugamba nti, “Olw'ekigambo ekyo, weddireyo; dayimooni avudde ku muwala wo.” N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko. Ate n'ava mu bitundu bye Ttuulo, n'agenda e Sidoni, eyo gye yava n'addayo ku nnyanja ey'e Ggaliraaya nga ayitira mu kitundu ky'e Dekapoli. Ne bamuleetera omuggavu w'amatu, atayogera bulungi; ne bamwegayirira okumussaako omukono gwe. N'amuggya mu kibiina kyama, n'amussa engalo mu matu ge, n'awanda amalusu, n'amukoma ku lulimi; n'atunula waggulu mu ggulu, n'assa ekikkowe, n'alyoka amugamba nti, “Efasa,” ekitegeeza nti, “ Gguka.” Amatu ge ne gagguka n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka n'ayogera bulungi. N'abakuutira baleme okubuulirako muntu; naye nga bwe yeeyongera okubakuutira, bwe beeyongera ennyo nnyini okukibunya. Ne bawuniikirira nnyo nnyini kitalo nga bagamba nti, “ Ebintu byonna abikoze bulungi, olaba aggula abaggavu b'amatu, era n'ayogeza ne bakasiru!” Awo mu nnaku ezo, ekibiina ne bwe kyakuŋŋaana, ne bataba na mmere ya kulya, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti, “Nsaasira ekibiina, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, era tebalina kya kulya; bwe mbasiibula okuddayo ewaabwe nga tebalidde, bajja kuzirikira mu kkubo, ate ng'abamu ku bo baava wala.” Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Omuntu anaayinza atya okukkusa abantu bano emigaati wano mu ddungu?” N'ababuuza nti, “ Mulina emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.” Awo Yesu n'alagira ekibiina okutuula wansi. N'addira emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'agimenyaamenyaamu, n'awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina. Era baali balina obw'ennyanja butono, nabwo n'abwebaza, n'alagira n'abwo okubussa mu maaso gaabwe. Ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo ebisero musanvu. Baali ng'enkumi nnya (4,000) n'abasiibula. Amangwago n'asaabala mu lyato n'abayigirizwa be, n'ajja mu kitundu ky'e Dalumanusa. Abafalisaayo ne bajja gy'ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema. Yesu n'assa ekikkowe, n'agamba nti, “Ab'Emirembe gino banoonyeza ki akabonero? Mazima mbagamba nti, ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero.” N'abaleka, n'asaabala nate n'agenda ku ludda olulala olw'ennyanja. Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato. N'abakuutira ng'agamba nti, “ Munywere, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'ekizimbulukusa kya Kerode.” Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti, “Tetulina migaati.” Yesu bwe yategeera n'abagamba nti, “Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? Temunnalaba, so temutegeera? Emitima gyammwe mikakanyavu? Mulina amaaso, temulaba? Mulina amatu, temuwulira? So temujjukira? Bwe nnamenyera enkumi ettaano (5,000) emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bwe mwakuŋŋaanya?” Ne bamugamba nti, “Kkumi na bibiri (12).” “Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya (4,000), mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka?” Ne bamugamba nti, “Musanvu.” N'abagamba nti, “Temunnategeera?” Awo ne bajja e Besusayida. Ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira amukwateko. N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru we kibuga. Awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti, “Oliko ky'olaba?” N'atunula waggulu n'agamba nti, “Ndaba abantu, kyokka bafaanana ng'emiti, nga batambula.” Era nate Yesu n'ayongera okukwata ku maaso g'omusajja, omusajja n'akanula okulaba, n'awona, n'alaba byonna bulungi. Yesu n'amusindika ewuwe, ng'amugamba nti, “Togezaako kuyingira mu kyalo.” Awo Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu bampita ani?” Ne bamugamba nti, “Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi.” Ye n'ababuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Ggwe Kristo.” Yesu n'abakuutira baleme okukibuulirako omuntu yenna. Awo Yesu n'atandika okubabuulira nti, kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira. N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amuzza wabbali n'atandika okumunneya. Yesu bwe yakyuka n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti, “Dda emabega wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.” N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere. Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n'olw'Enjiri alibulokola. Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n'okufiirwa obulamu bwe? Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe? Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.” Awo Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti, Ku bano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.” Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe. Engoye ze ne zaakaayakana ne zitukula nnyo; so nga tewali mwozi ku nsi ayinza okuzitukuza bw'atyo. Awo Eriya ne Musa ne babalabikira; era baali boogera ne Yesu. Peetero n'addamu, n'agamba Yesu nti, “Labbi, kye kirungi ffe okubeera wano; kale tusiisire ensiisira ssatu; emu yiyo, n'emu ya Musa, n'emu ya Eriya.” Kubanga yali tamanyi ky'anaddamu; kubanga baali battidde nnyo. Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.” Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tebalaba muntu mulala wabula Yesu yekka nabo. Awo bwe baali bakka ku lusozi, n'abakuutira baleme okubuulirako omuntu bye balabye, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alizuukira mu bafu. Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti, “Okuzuukira mu bafu kuliba kutya?” Ne bamubuuza nga bagamba nti, “Abawandiisi boogera nti, kigwana Eriya okusooka okujja.” N'abagamba nti, “ Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa? Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa.” Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka. Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne beewuunya nnyo, ne badduka ne bajja gy'ali ne bamulamusa. N'ababuuza nti, “Mubasokaasoka lwaki?” Omu mu kibiina n'amuddamu nti, “Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera; buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: ŋŋambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza.” N'abaddamu, n'agamba nti, “ Mmwe ab'emirembe egitakkiriza, ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere.” Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangwago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu. N'abuuza kitaawe nti, “ Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki?” N'agamba nti, “ Okuviira ddala mu buto. Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere.” Yesu n'amugamba nti, “Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza.” Amangwago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti, “ Nzikirizza saasira obutakkiriza bwange.” Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kijja kidduka, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti, “ Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiranga nate n'akatono.” Awo n'akaaba, n'amutaagula nnyo, n'amuvaako; n'afaanana ng'afudde; n'okugamba abalala bangi ne bagamba nti, “ Afudde.” Naye Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa; n'ayimirira. Awo bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti, “ Lwaki ffe tetwayinzizza kumugoba?” N'abagamba nti, “Engeri eno teyinzika kugenda nakirala awatali kusaba na kusiiba.” Ne bavaayo, ne bayita mu Ggaliraaya, n'atayagala muntu yenna kutegeera. Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa be nga abagamba nti, “ Omwana w'omuntu aliweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira.” Naye tebaategeera kigambo ekyo, ne batya okumubuuza. Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti, “Mubadde muwakana ki mu kkubo?” Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti, “ani omukulu.” N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna.” N'addira omwana omuto, n'amuyimiriza wakati mu bo: awo n'amuwambaatira n'abagamba nti, “Buli anakkirizanga omu ku baana abato abaliŋŋanga ono, mu linnya lyange, ng'akkirizza nze: na buli muntu yenna anzikiriza nze, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.” Awo Yokaana n'amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo ne tumugaana, kubanga yali tayita naffe.” Naye Yesu n'agamba nti, “ temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangwago n'anvuma. Kubanga atali mulabe waffe ng'ali ku lwaffe. Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono. Na buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja. Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira; envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira. N'okugulu kwo bwe kukwesittazanga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi; envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira. N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi; envunyu yaabwe gye tefiira, so n'omuliro teguzikira. Kubanga buli muntu alirungibwamu omuliro. Omunnyo mulungi: naye omunnyo bwe guggwaamu ensa mulizzaamu ki? Mmwe mubeere n'omunnyo munda wammwe, mutabagane mwekka na mwekka.” Awo n'agolokoka n'avaayo, n'ajja mu kitundu kye Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali nate; nga empisa ye bwe yali n'abayigiriza. Awo Abafalisaayo olw'okwagala okumugezesa, ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti, “Kirungi omuntu okugobanga mukazi we?” Naye n'addamu n'abagamba nti, “Musa yabalagira atya?” Ne bagamba nti, “Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba, alyoke agobebwenga.” Naye Yesu n'abagamba nti, “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe kyeyava abawandiikira etteeka lino. Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi. Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.” Awo ate mu nnyumba abayigirizwa ne bamubuuza ekigambo ekyo. N'abagamba nti, “Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we, n'awasa omulala, nga azizza omusango ogw'obwenzi ku mukyala we; naye yennyini bw'anaanobanga ewa bba, n'afumbirwa omulala, ng'ayenze.” Awo ne bamuleetera abaana abato, abakwateko; naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. Naye Yesu bwe yalaba n'asunguwala, n'abagamba nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe. Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.” N'abawambaatira, n'abawa omukisa, ng'abassaako emikono. Awo bwe yali anaatera okugenda, omusajja najja ng'adduka, n'afukamira wali, n'amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, n'akola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo?” Yesu n'amugamba nti, “Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda. Omanyi amateeka, ‘Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaanyanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.’ ” N'amugamba nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna nnabikwata okuva mu buto bwange.” Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti, “oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.” Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina ebintu bingi. Awo Yesu ne yeetoolooza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti, “ Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!” Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'addamu nate, n'abagamba nti, “Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! Kye kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Ne bawuniikirira nnyo, ne bamugamba nti, “Kale ani ayinza okulokoka?” Awo Yesu n'abatunuulira n'agamba nti, “ Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda.” Awo Peetero n'atandika okumugamba nti, “Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera.” Yesu n'agamba nti, “Mazima mbagamba nti, Tewali eyaleka ennyumba, oba ab'oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'Enjiri, ataliweebwa emirundi kikumi (100) mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n'ab'oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo. Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.” Baali mu kkubo nga bambuka e Yerusaalemi; ne Yesu yali ng'abakulembedde, ne beewuunya, na bali abaagoberera ne batya. Awo nate n'atwala ekkumi n'ababiri (12), n'atandika okubabuulira ebigambo ebigenda okumubaako, nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab'amawanga, balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta, bwe waliyitawo ennaku essatu alizuukira.” Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti, “ Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.” N'abagamba nti, “ Mwagala mbakolere ki?” Ne bamugamba nti, “Tuwe tutuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu kitiibwa kyo.” Naye Yesu n'abagamba nti, “ Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? Oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze?” Ne bamugamba nti, “ Tuyinza.” Yesu n'abagamba nti, “Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa; naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, si nze nkugaba, naye kw'abo be kwategekerwa.” Awo ekkumi (10) bwe baawulira, ne batandika okusunguwalira Yakobo ne Yokaana. Yesu n'abayita, n'abagamba nti, “ Mumanyi ng'abo abalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafuza amaanyi; n'abakulu baabwe babatwala lwa mpaka. Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe; na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wa bonna. Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.” Awo ne batuuka e Yeriko bwe yava mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Battimaayo, omusabi omuzibe w'amaaso, yali atudde ku mabbali g'ekkubo. Awo bwe yawulira nga Yesu Omunazaaleesi ye wuuyo, n'atandika okwogerera waggulu n'okugamba nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire.” Bangi ne bamuboggolera okusirika: naye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “ Omwana wa Dawudi, onsaasire.” Awo Yesu n'ayimirira n'agamba nti, “ Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti, “ Guma omwoyo; golokoka, akuyita.” Naye n'asuula olugoye lwe, n'asituka, n'ajja eri Yesu. Yesu n'amuddamu, n'agamba nti, “ Oyagala nkukole ntya?” Omuzibe w'amaaso n'amugamba nti, “Labooni, njagala nzibule.” Awo Yesu n'amugamba nti, “ Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza.” amangwago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo. Awo bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi nga batuuse e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangwago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete. Omuntu bw'abagamba nti, ‘Mukola ki ekyo?’ mugamba nti, ‘Mukama waffe ye agwetaaga;’ amangwago anaaguweereza eno.” Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula. Abamu ku abo abaali bayimiridde awo ne babagamba nti, “ Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi?” Ne babagamba nga Yesu bwe yabagamba: ne babaleka. Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulako engoye zaabwe; n'agwebagala. Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro. Abaali bakulembedde n'abaali bava emabega ne boogerera waggulu nti, “ Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: Buweereddwa omukisa obwakabaka obujja, obwa jjajjaffe Dawudi: Ozaana waggulu ennyo.” N'atuuka mu Yerusaalemi n'ayingira mu Yeekaalu; bwe yamala okwetoolooza amaaso okulaba byonna, obudde bwali nga buwungeera, n'afuluma n'agenda e Bessaniya n'ekkumi n'ababiri (12). Awo enkeera, bwe baali bavudde e Bessaniya n'alumwa enjala. Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala, n'agutuukako, alabe oba nga anaasangako ekibala kyonna, awo bwe yagutuukako, n'atalabako bibala wabula amalagala; kubanga si bye byali ebiro by'ettiini. N'addamu n'agugamba nti, “Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo.” Abayigirizwa be ne bawulira. Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu Yeekaalu, n'atandika okugobamu abaali batunda n'abagulira mu Yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba; n'ataganya muntu okuyisa ekintu kyonna mu Yeekaalu. N'ayigiriza, n'abagamba nti, “ Tekyawandiikibwa nti, ‘ Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna?’ Naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.” Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe. Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga. Awo enkeera ku makya, bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala. Peetero bwe yajjukira n'amugamba nti, “Labbi, laba, omutiini gwe wakolimira gukaze.” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mube n'okukkiriza mu Katonda. Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti, ‘ Sigulibwa, osuulibwe mu nnyanja;’ nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiriza nga ky'ayogera kikolebwa, alikiweebwa. Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize nga mubiweereddwa, era mulibifuna Awo bwe munaayimiriranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe. Naye bwe mutasonyiwa, era ne Kitammwe ali mu ggulu talisonyiwa byonoono byammwe.” Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yali ng'atambula mu Yeekaalu, ne bajja w'ali bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde; ne bamugamba nti, “ Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino?” Awo Yesu n'abagamba nti, “ Nange ka mbabuuze mmwe ekigambo kimu, munziremu, nange nnaababuulira mmwe obuyinza bwe buli obunkoza bino. Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu? Munziremu.” Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu;’ anaagamba nti, ‘ Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?’ Naye tugambe nti, ‘Kwava mu bantu? ’ ” Baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi. Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti, “ Tetumanyi.” Yesu n'abagamba nti, “Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.” Awo Yesu n'atandika okwogerera nabo mu ngero ng'agamba nti, “ Omuntu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alwetooloozako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisa abalimi, n'agenda mu nsi endala. Awo omwaka bwe gwatuuka n'atuma omuddu eri abalimi, abalimi bamuwe ebibala by'emizabbibu gye. Ne bamukwata, ne bamukuba, n'addayo ngalo nsa. Ate n'abatumira omuddu omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza. N'atuma omulala; oyo ne bamutta: n'abalala bangi; abamu nga babakuba, abalala nga babatta. Yali asigazzaawo omu yekka ow'okutuma, ye mutabani we omwagalwa, bw'atyo n'amutuma gyebali, ng'agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’ Naye abalimi bali ne bateesa bokka na bokka nti, ‘Ono ye musika, kale tumutte, n'obusika buliba bwaffe.’ Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'olusuku lw'emizabbibu. Kiki nannyini lusuku lw'emizabbibu kyalikola? Alijja, alizikiriza abalimi, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa balala.” Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikibwa nti, “Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lyafuulibwa omutwe ogw'oku nsonda: Ekyo kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe?” Ne basala amagezi okumukwata; ne batya ebibiina: kubanga baategeera ng'ageredde ku bo olugero olwo: ne bamuleka, ne bagenda. Ne batuma gy'ali ab'omu Bafalisaayo n'Abakerodiyaani okumutega mu bigambo. Awo bwe bajja, ne bamugamba nti, “ Omuyigiriza, tumanyi ggwe ng'oli wa mazima, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima: kale kirungi okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo? Tuwengayo, oba tetuwangayo?” Naye bwe yategeera bunnanfuusi bwabwe, n'abagamba nti, “ Munkemera ki? Mundeetere eddinaali, ngirabe.” Ne bagireeta. N'abagamba nti, “Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko buno by'ani?” Ne bamugamba nti, “ Bya Kayisaali.” Yesu n'abagamba nti, “ Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumuwenga Katonda.” Ne bamwewuunya nnyo. Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja w'ali; ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga, n'aleka mukazi we, nga tazadde mwana, muganda we atwalanga mukazi we, n'azaalira muganda we abaana. Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa, nga talese baana; ow'okubiri n'amuwasa, n'afa, era naye nga talese baana; n'ow'okusatu bw'atyo: bonna omusanvu ne bafa nga tebalesewo baana. Oluvannyuma bonna nga baweddewo n'omukazi n'afa. Kale bwe balizuukira aliba muka ani ku bo? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.” Yesu n'abagamba nti, “Si kyemuva mukyama nga temumanyi ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda? Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebaliwasa, so tebaliwayira; naye baliba nga bamalayika ab'omu ggulu. Naye eby'abafu okuzuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuulira ng'agamba nti, ‘ Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? Si Katonda wa bafu, naye wa balamu,’ mukyama nnyo.” Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti, “ Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna?” Yesu n'addamu nti, “ Ery'olubereberye lye lino nti, ‘Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu; era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.’ Eryokubiri lye lino nti, ‘ Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.” Omuwandiisi n'amugamba nti, “Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu. So tewali mulala wabula ye: n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.” Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti, “ Toli wala obwakabaka bwa Katonda.” Awo ne wataba muntu ayaŋŋaanga okumubuuza nate. Yesu bwe yali ng'ayigiriza mu Yeekaalu n'abuuza nti, “Lwaki abawandiisi bagamba nti, Kristo mwana wa Dawudi?” Dawudi yennyini yagamba mu Mwoyo Omutukuvu nti, “Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.” Dawudi yennyini amuyita Mukama we, abeera atya omwana we? Ab'omu kibiina ne bamuwulira n'essanyu. Awo mu kuyigiriza kwe n'abagamba nti, “Mwekuume abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu, n'okulamusibwa mu butale, n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga; abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene.” Awo Yesu n'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula ensimbi mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi. Awo nnamwandu omu omwavu n'ajja, n'asuulamu ebitundu bibiri, ye kodulante. N'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika: kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.” Awo bwe yafuluma mu Yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri.” Yesu n'amugamba nti, “ Olaba ebizimbe bino eby'ekitalo? Tewalisigala wano jjinja na limu ku linnaalyo eritalisuulibwa wansi.” Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekedde Yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama nti, “Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era akabonero ki akalibaawo ng'ebyo byonna bigenda okutuukirira?” Yesu n'atandika okubagamba nti, Mwekuume, omuntu yenna tabakyamyanga. Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti, Nze nzuuyo; era balikyamya bangi. Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo, temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali. Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obwakabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa. Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makuŋŋaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo. Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu. Ow'oluganda anaawangayo muganda we okumutta, ne kitaawe w'omwana anaamuwangayo; abaana banaajeemeranga abaabazaala, banaabassissanga. Munnaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka. Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asoma ategeere) kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; ali waggulu ku nju takkanga, so tayingiranga kuggyamu kintu mu nju ye: n'ali mu nnimiro taddanga kutwala lugoye lwe. Naye ziribasanga abaliba embuto, n'abaliba bayonsa mu nnaku ezo. Musabe bireme okutuukira mu kiseera eky'obutiti. Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityo kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, era teziriddamu nate. Era singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandirokose muntu yenna, naye olw'abalonde be yalonda yazisalako. Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali wali; temukkirizanga: kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba balijja, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika n'abalonde. Naye mwekuume mmwe: laba, mbabuulidde byonna nga tebinnabaawo. Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa. Kale ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi amangi n'ekitiibwa. Awo n'alyoka atuma bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu. Era muyigire ku mutiini, ettabi lyagwo bwe ligejja n'amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi; era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bituuse, mutegeere ng'ali kumpi, ku luggi. Mazima mbagamba nti, Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono, okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira. Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono. Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bamalayika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange. Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira. Ng'omuntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe, n'alagira omuggazi okutunula. Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennyumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya; si kulwa ng'akomawo amangwago n'abasanga nga mwebase. Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti, Mutunule. Awo bwe waali wakyabulayo ennaku bbiri, embaga y'Okuyitako ne y'emigaati egitazimbulukusiddwa okutuuka, bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamukwata bamutte; kubanga baagamba nti, “Si ku lunaku lwa mbaga, kubanga abantu bayinza okuleetawo akegugungo.” Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwa Yesu. Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala ne beebuuza nti, “ Amafuta gafudde ki bwe gatyo? Kubanga amafuta gano ganditundiddwa eddinaali bisatu (300) n'okusingawo ne ziweebwa abaavu.” Ne bamwemulugunyiza. Naye Yesu n'agamba nti, “Mumuleke; mumunakuwaliza ki? Ankoledde ekikolwa ekirungi. Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubakola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo. Akoze nga bw'ayinzizza: asoose okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukyali okunziika. Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, kino omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.” Awo Yuda Isukalyoti, eyali omu ku kkumi n'ababiri (12), n'agenda eri bakabona abakulu alabe bw'anaalyamu Yesu olukwe abamuwe. Awo bwe baawulira ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'anoonya ebbanga wanaamuliramu olukwe. Awo ku lunaku olwasooka olw'embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa kwe battira omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tugende wa tutegeke gy'onooliira Okuyitako?” N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga, anaasisinkana nammwe omusajja nga yeetisse ensuwa y'amazzi: mumugoberere; muyingire mu nnyumba mw'anaayingira, mugambe nnannyini nnyumba nti, ‘Omuyigiriza agambye nti, Ekisenge kiri ludda wa mwe nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange?’ Anaabalaga ye yennyini ekisenge ekinene ekya waggulu ekitegeke era ekirongooseddwa, mututegekere omwo.” Awo abayigirizwa ne bagenda ne bajja ku kibuga, ne balaba nga bwe yabagambye: ne bategeka Okuyitako. Awo bwe bwawungeera n'ajja n'ekkumi n'ababiri (12). Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti, “ Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.” ne batandika okunakuwala, n'okumubuuza kinnoomu nti, “Ye nze?” N'abagamba nti, “Omu ku kkumi n'ababiri (12) akoza nange mu kibya ye wuuyo. Kubanga Omwana w'omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikwako: naye zirimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.” Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti, “Mutoole; guno gwe mubiri gwange.” Ate n'addira ekikompe, awo bwe yamala okwebaza, n'akibawa; ne bakinywako bonna. N'abagamba nti, “Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi. Mazima mbagamba nti Sirinywa nate ku kibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kiggya mu bwakabaka bwa Katonda.” Awo bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni. Awo Yesu n'abagamba nti, “Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana.’ Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda mu Ggaliraaya.” Naye Peetero n'amugamba nti, “Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze.” Yesu n'amugamba nti, “ Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.” Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” Era bonna ne bagamba bwe batyo. Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano mmale okusaba.” N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atandika okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo. N'abagamba nti, “ emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule.” N'atambulako katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kiyinzika, ekiseera kimuyiteko. N'agamba nti, “Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nzigyako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.” Awo n'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti, “Simooni, weebase? Tosobodde kutunula wadde essaawa emu bw'eti? Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.” Nate n'addayo, n'asaba, n'ayogera ebigambo bye bimu na biri. N'akomawo nate, n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu. N'ajja omulundi ogwokusatu, n'abagamba nti, “ Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi. Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.” Awo amangwago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri (12), n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde. Yuda eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero nti, “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.” Awo bwe yatuuka, amangwago n'ajja gy'ali n'agamba nti, “Labbi;” n'amunywegera nnyo. Ne bamussaako emikono gyabwe, ne bamukwata. Naye omu ku abo abaali bayimiridde awo n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu. Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Munjijiridde nga bwe mujjira omunyazi, n'ebitala n'emiggo okunkwata? Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu Yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.” Awo bonna ne bamwabulira ne badduka. Awo omulenzi omu n'amugoberera, eyali yeebikkiridde olugoye olw'ekitaani lwokka ku mubiri: ne bamukwata; naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'adduka bwereere. Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu. Bakabona abakulu bonna n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaana. Awo Peetero n'agoberera Yesu ng'ali walako, n'atuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu, n'atuula n'abakuumi ng'ayota omuliro. Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubula. Kubanga bangi abaaleeta obujulizi obw'obulimba ku ye, era obujulizi bwabwe bwali bukoonagana. Awo abamu ne bayimuka ne bamuwaayiriza, nga bagamba nti, “Ffe twamuwulira ng'agamba nti, ‘Ndimenya Yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.’ ” Era n'obujulizi obwo tebwakwatagana. Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, nti, “Ggwe toyanukula n'akatono? Kiki kye bakulumiriza bano?” Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?” Yesu n'agamba nti, “Ye Nze, nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.” Awo kabona asinga obukulu n'ayuza engoye ze, n'agamba nti, “Twetaagira ki nate abajulirwa? Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya?” Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa. Awo abamu ne batandika okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti, “Lagula.” Abakuumi nabo ne bamutwala nga bamukuba empi. Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bazaana bakabona asinga obukulu n'ajja; awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'amugamba nti, “Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.” Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Simanyi, so sitegeera ky'oyogera.” N'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima. Awo omuzaana n'amulaba, n'atandika era okubagamba abaali bayimiridde awo nti, “ Omusajja oyo omu ku bo.” Peetero n'ayongera okwegaana. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti, “Mazima oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya.” Peetero n'atandika okukolima n'okulayira nti, “Simanyi muntu ono gwe mwogerako.” Amangwago enkoko n'ekookolima omulundi ogwokubiri. Awo Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu bwe yamugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'atulika n'akaaba amaziga. Awo amangwago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato. Awo Piraato n'amubuuza nti, “ Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti, “ Kyoyogedde kye kyo.” Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi. Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti, “ Toyanukula n'akatono? Laba ebigambo bingi bye bakuloopa.” Naye Yesu n'ataddamu nate kigambo; Piraato n'okwewuunya ne yeewuunya. Awo ku mbaga yabateeranga omusibe omu gwe baamusaba. Awo waaliwo omu ayitibwa Balaba, eyasibibwa n'abo abaajeema, abatta abantu mu kegugungo. Awo ekibiina ne kijja ne kitandika okusaba Piraato okubakola nga bwe yabakolanga. Awo Piraato n'abaddamu, nti, “Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?” Kubanga yategeera nga bakabona abakulu baamuweesezzaayo buggya. Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba mu kifo kya Yesu. Awo Piraato n'addamu nate n'ababuuza nti, “ Kale nnaamukola ntya gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya?” Awo ne boogerera waggulu nate nti, “ Mukomerere.” Awo Piraato n'abagamba nti, “Kazzi kibi ki ky'akoze?” Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “Mukomerere.” Awo Piraato bwe yali ayagala okusanyusa ekibiina, n'abateera Balaba, n'awaayo Yesu okukomererwa ng'amaze okumukuba. Awo abasserikale ne bamutwala munda mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo; ne bayita ekitongole kyonna okukuŋŋaana. Ne bamwambaza olugoye olw'effulungu ne baluka engule ey'amaggwa ne bagimutikkira; ne batandika okumulamusa nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza. Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'effulungu, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera. Ne bawaliriza omuntu eyali ayita, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo, okugenda nabo okwetikka omusalaba gwe. Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, amakulu gaakyo, “Kifo kya kiwanga.” Ne bamuwa omwenge ogutabuddwamu envumbo: naye ye n'atagukkiriza. Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga babikubirako obululu, buli muntu ky'anaatwala. Awo essaawa zaali ziri ssatu, ne bamukomerera. Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waggulu nti, “KABAKA w'Abayudaaya.” Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti, “N'abalirwa awamu n'abasobya.” Awo abaali bayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti, “So, ggwe amenya Yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu, weerokole, ove ku musalaba.” Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi nabo ne bagamba nti, “ Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. Kristo Kabaka wa Isiraeri ave kaakano ku musalaba, tulyoke tulabe tukkirize.” Ne bali abaakomererwa naye ne bamuvuma. Awo essaawa bwe zaali ziri mukaaga ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa ey'omwenda. Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Eloi, Eloi, lama sabakusaani?” Amakulu gaakyo nti, “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?” Awo abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laba, ayita Eriya.” Awo ne wabaawo omu n'adduka, n'annyika ekyangwe mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti, “ Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula.” Awo Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene n'awaayo obulamu. Awo n'eggigi ly'omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Awo omwami w'ekitongole eyali ayimiridde awo ng'amwolekedde bwe yalaba ng'awaddeyo obulamu bw'atyo, n'agamba nti, “ Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.” Era waaliwo walako abakazi nga balengera: mu abo mwalimu ne Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose, ne Saalome; abo bwe yali mu Ggaliraaya be baayitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi. Awo bwe bwawungeera, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, lwe lunaku olusooka ssabbiiti, Yusufu ow'e Alimasaya, omukulu asibwamu ekitiibwa mu lukiiko olukulu, era eyasuubiranga yennyini obwakabaka bwa Katonda; n'aguma n'ayingira eri Piraato nga tatya, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato ne yeewuunya bw'afudde amangu, n'ayita omwami w'ekitongole n'amubuuza oba ng'ekiseera kiyiseewo yaakafiira. Awo bwe yakiwulira okuva eri omwami, n'awa Yusufu omulambo. Ye n'agula olugoye olw'ekitaani, n'amuwanula, n'amuzinga mu lugoye olw'ekitaani olwo, n'amussa mu ntaana eyasimwa mu lwazi, n'ayiringisiza ejjinja ku mulyango gw'entaana. Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yose ne balaba we yateekebwa. Awo Ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, eby'okusiiga omulambo gwa Yesu. Awo bwe bwakya enkya ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali yaakavaayo ne bajja ku ntaana. Awo baali beebuuzaganya bokka nti, “ Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?” Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali ate nga lyali ddene nnyo. Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olweru, ne bawuniikirira. N'abagamba nti, “Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa. Naye mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Peetero nti, Abakulembedde okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.” Awo ne bafuluma ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya. Awo bwe yamala okuzuukira ku makya ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu. Oyo n'agenda n'abuulira abaayitanga naye, n'abasanga nga bakungubaga era nga bakaaba. Awo bo, bwe baawulira nga mulamu, ng'alabiddwa ye, ne batakkiriza. Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo. Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, naye nabo ne batabakkiriza. Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu (11) nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira. N'abagamba nti, “ Mugende mu nsi zonna, mubuulire Enjiri eri ebitonde byonna. Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga. Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya; banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga.” Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina. Bangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe, nga bwe baabitubuulira, abo abaasooka okuva ku lubereberye okuba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo, awo nange bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, ndabye nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro omulungi ennyo, byonna nga bwe byaliraana; olyoke omanye amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa. Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka w'e Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi. N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi. So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba, ate nga bombi baali bakaddiye nnyo. Awo olwatuuka, Zaakaliya bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwakabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana, awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu Yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane. Awo ekibiina kyonna eky'abantu kyali nga kisabira bweru mu kiseera eky'okwoterezaamu. Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwotereezaako. Awo Zaakaliya bwe yamulaba ne yeeraliikirira, n'atya. Naye malayika n'amugamba nti, “ Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana.” “Olisanyuka, era olijaguza, era bangi abalisanyukira okuzaalibwa kwe. Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama, so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza; era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu lubuto lwa nnyina. Era abaana ba Isiraeri bangi alibakomyawo eri Mukama Katonda waabwe. Mukama mu Mwoyo n'amaanyi nga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu okumulindirira.” Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti, “ Nnaakimanya ntya ekyo? Kubanga nze ndi mukadde ne mukazi wange naye akaddiye.” Awo malayika n'addamu n'amugamba nti, “ Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi. Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku bye nkugambye lwe biribaawo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa mu ntuuko zaabyo.” Awo abantu baali balindirira Zaakaliya, era nga beewuunya bw'aludde mu Yeekaalu. Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu Yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono kubanga yali azibye omumwa. Awo olwatuuka, ennaku ez'okuweereza kwe bwe zaggwaayo, n'addayo eka ewuwe. Awo ennaku ezo bwe zaayitawo mukazi we Erisabesi n'aba olubuto: ne yeekwekera emyezi etaano, ng'agamba nti, “Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu n'anzijako ensonyi mu bantu.” Awo mu mwezi ogw'omukaaga Katonda n'atuma malayika Gabulyeri mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi, eri omuwala atamanyi musajja, erinnya lye Malyamu, eyali ayogerezebwa omusajja, erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi. Awo Malayika najja gyali, n'amugamba nti, “ Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe.” Naye Malyamu ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli. Awo malayika n'amugamba nti, “ Totya, Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda. Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu. Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” Awo Malyamu n'agamba malayika nti, “ Kiriba kitya ekyo, kubanga simanyi musajja?” Ne malayika n'addamu n'amugamba nti, “Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda. Laba, Erisabesi muganda wo, era naye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe, guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba. Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi.” Malyamu n'agamba nti, “ Laba, nze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava gy'ali. Awo mu nnaku ezo Malyamu n'asituka n'agenda mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda; n'ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi. Awo olwatuuka Erisabesi bwe yawulira okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwe; Erisabesi n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti, “Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa. Nange nno, ekigambo kino kivudde wa, nnyina Mukama wange okujja gye ndi? Kubanga laba, eddoboozi ly'okulamusa kwo bwe liyingidde mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwange, olw'essanyu. Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga ebyo bye wagambibwa Mukama, birituukirizibwa.” Awo Malyamu n'agamba nti, “Emmeeme yange etendereza Mukama, N'omwoyo gwange gusanyukidde Katonda Omulokozi wange. Kubanga alabye obunaku bw'omuzaana we: Kubanga, laba, okusooka leero abantu ab'emirembe gyonna banaampitanga aweereddwa omukisa. Kubanga Oyo Omuyinza ankoledde ebikulu; N'erinnya lye ttukuvu. N'ekisa kye kiri eri abo abamutya; Emirembe n'emirembe. Alaze amaanyi n'omukono gwe; Asaasaanyizza abalina amalala mu kulowooza kw'omu mitima gyabwe. Agobye abafuzi abeekulumbaza ku ntebe zaabwe, Agulumizizza abeetoowaze Abalina enjala abakkusizza ebirungi; N'abagagga abagobye nga tebalina kintu. Abedde Isiraeri omuddu we Ajjukire ekisa kye Nga bwe yagamba bajjajjaffe Eri Ibulayimu n'ezzadde lye, emirembe gyonna.” Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'esatu, n'addayo ewuwe. Awo ebiro bya Erisabesi ne bituuka eby'okuzaala: n'azaala omwana wa bulenzi. Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amukwatiddwa ekisa kye, ne basanyukira wamu naye. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; era baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya. Nnyina n'addamu n'abagamba nti, “ Nedda, naye anaatuumibwa Yokaana.” Ne bamugamba nti, “ Tewali wa mu kika kyo ayitibwa linnya eryo.” Ne bawenya ku kitaawe, bw'ayagala okumutuuma. N'ayagala ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika, nti Erinnya lye ye Yokaana. Ne beewuunya bonna. Amangwago akamwa ke ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera nga yeebaza Katonda. Bonna abaali baliraanyeewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonna ne bibuna mu nsi yonna ey'ensozi ey'e Buyudaaya. Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti, “ Kale omwana oyo aliba ki?” Kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye. Kitaawe Zaakaliya n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, n'ayogera, ng'agamba nti, “Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri; Kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde, Era atuyimusirizza ejjembe ery'obulokozi Mu nnyumba y'omuddu we Dawudi. Nga bwe yayogerera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu, abaaliwo kasookedde ensi ebaawo, Okulokolebwa mu balabe baffe, ne mu mikono gy'abo bonna abatukyawa; Okutuukiriza ekisa kye yasuubiza bajjajjaffe, N'okujjukira endagaano ye entukuvu; Okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu, Okukituwa ffe; ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baffe, Tulyoke tumuweereze nga tetuliiko kye tutya, Mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna. Naawe, omwana, oliyitibwa nnabbi w'Oyo Ali waggulu ennyo: Kubanga olikulembera Mukama okulongoosa amakubo ge; Okumanyisa abantu be obulokozi, Ebibi byabwe bibaggibweko, Olw'ekisa kya Katonda waffe ekirungi, Emmambya kyevudde etusalira eva mu ggulu, Okwakira abatuula mu nzikiza, ne mu kisiikirize ky'olumbe, Okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.” Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n'abeeranga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri. Awo olwatuuka mu nnaku ezo etteeka ne liva eri Kayisaali Augusito abantu ab'ensi zonna okwewandiisa. Okwo kwe kwewandiisa okwasooka okubaawo Kuleniyo bwe yali nga y'afuga Obusuuli. Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga gy'asibuka. Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'agenda e Buyudaaya, mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi, ye wandiise ne Malyamu, gwe yali ayogereza, era ng'ali lubuto. Awo olwatuuka baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka. N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaafuna kifo mu kisulo ky'abagenyi. Waaliwo abasumba mu nsi eyo abaasulanga ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo. Awo malayika wa Mukama n'ayimirira we baali, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasamasa, ne batya nnyo. Malayika n'abagamba nti, “ Temutya; kubanga, laba, mbaleetera ebigambo ebirungi eby'essanyu eringi eririba eri abantu bonna: kubanga leero azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, ye Kristo Mukama waffe. Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.” Awo amangwago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti, “Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; Ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.” Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti, “ Kale tugende e Besirekemu tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.” Ne bagenda mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo. Awo bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baabuulirwa ku mwana oyo. Bonna abaawulira ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuulira. Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna, ng'abirowooza mu mutima gwe. Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, ne bye baalaba, nga bwe byabaabuulirwa. Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa erinnya lye Yesu, liri eryayogerwa malayika nga tannaba kuba mu lubuto. Awo ennaku ez'okulongooka kwabwe bwe zaatuuka ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne batwala Yesu ne bamwambusa e Yerusaalemi, okumwanjulira Mukama nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama nti, “ Buli kisajja ekiggulanda kinaayitibwanga kitukuvu eri Mukama.” n'okuwaayo ssaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri. Era, laba, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi erinnya lye Simyoni, omuntu oyo yali mutuukirivu, era atya Katonda, ng'alindirira okununulibwa kwa Isiraeri: era Omwoyo Omutukuvu yali ku ye. Oyo Omwoyo Omutukuvu yali amubikkulidde nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama. Awo Simyoni n'ajjira mu Mwoyo mu Yeekaalu: abakadde bwe baayingiza omwana Yesu mu Yeekaalu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka. Awo Simyoni n'asitula omwana mu mikono gye, ne yeebaza Katonda n'agamba nti, “Mukama wange, kaakano siibula omuddu wo Emirembe, ng'ekigambo kyo bwe kyali; Kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo, Bwe wateekateeka mu maaso g'abantu bonna: Okuba omusana ogw'okumulisa amawanga N'okuba ekitiibwa ky'abantu bo Isiraeri.” Kitaawe ne nnyina ne beewuunyanga ebigambo ebyo ebyamwogerwako; awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti, “ Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga n'abalala bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa; era ggwe ekitala kirikufumita mu mmeeme; ebirowoozo eby'emitima emingi biryoke bibikkulwe.” Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri era yali mukazi mukadde, yafumbirwa nga muwala muto, n'abeera ne bba emyaka musanvu, naye yali nnamwandu nga yaakamala emyaka kinaana mu ena (84), era teyavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ekiro n'emisana. Oyo bwe yajja mu kiseera ekyo ne yeebaza Katonda, n'abuulira ebigambo bye eri bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi. Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebiri mu mateeka ga Mukama, ne baddayo e Ggaliraaya, mu kibuga ky'ewaabwe e Nazaaleesi. Awo omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi, n'ajjuzibwa amagezi: ekisa kya Katonda ne kibanga ku ye. Awo bakadde be baagendanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okuyitako. Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemi nga empisa y'embaga bwe yali: awo bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana oyo Yesu n'asigala mu Yerusaalemi, naye bakadde be ne batamanya: naye bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe: bwe bataamulaba ne baddayo e Yerusaalemi, nga bamunoonya. Awo olwatuuka bwe waayitawo ennaku ssatu ne bamusanga mu Yeekaalu, ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza, era ng'ababuuza: bonna abaamuwulira ne bawuniikirira olw'amagezi ge n'okuddamu kwe. Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti, “ Mwana wange, lwaki otukoze bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde.” N'abagamba nti, “ Mwannoonyeza ki? Temwamanya nga kiŋŋwanidde okubeera mu bigambo bya Kitange?” Ne batategeera kigambo ekyo kye yabagamba. N'aserengeta nabo n'ajja e Nazaaleesi, n'abagonderanga: nnyina ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna mu mutima gwe. Awo Yesu ne yeeyongerangako amagezi n'okukula, n'okuganja eri Katonda n'eri abantu. Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano (15) ogw'obufuzi bwa Kayisaali Tiberiyo, nga Pontiyo Piraato ye w'essaza ly'e Buyudaaya, ne Kerode bwe yali nga y'afuga e Ggaliraaya, ne Firipo muganda we bwe yali nga y'afuga Ituliya n'ensi ey'e Tirakoniti, ne Lusaniya bwe yali nga y'afuga Abireene; ne Ana ne Kayaafa bwe baali nga be bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu ddungu. N'ajja mu nsi yonna eriraanye Yoludaani, ng'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggyibwako ebibi; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge. Buli kiwonvu kirijjuzibwa, Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa: N'ekikyamye kirigololwa, N'amakubo agatali masende galitereezebwa; N'abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.” Awo Yokaana n'agamba ebibiina ebyafulumanga okujja gyali okubatizibwa nti, “ Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana. Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro.” Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti, “ Kale tukole ki?” N'addamu n'abagamba nti, “ Alina ekkanzu ebbiri, amuweeko emu atalina, n'alina emmere naye akole bw'atyo.” N'abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza tukole ki?” N'abagamba nti, “Temusoloozanga kusukkiriza okusinga ekyo kye mwalagirwa.” Era n'abasserikale nabo ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Naffe tukole ki?” N'abagamba nti, “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawayirizanga misango gye batazziza. Empeera yammwe ebamalenga.” Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza mu mitima gyabwe nti oba oli awo Yokaana ye Kristo. Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti, “ Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula buguwa bwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro. Olugali lwe luli mu mukono gwe, okulongoosa ennyo egguuliro lye, n'okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika lye; naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.” Era n'ababuulirira n'ebirala bingi ng'abuulira abantu ebigambo ebirungi. Era Yokaana yanenya Kerode owessaza, olwa Kerodiya muka muganda we, n'olw'ebigambo ebibi byonna Kerode bye yakola. Ate ku ebyo byonna Kerode n'ayongerako kino, n'akwata Yokaana n'amussa mu kkomera. Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka, Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nga ligamba nti, “ Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.” Era Yesu yennyini, yatandika okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'asatu (30), era nga bwe yalowoozebwa nga ye mwana wa Yusufu, mwana wa Eri, mwana wa Mattati, mwana wa Leevi, mwana wa Mereki, mwana wa Yanayi, mwana wa Yusufu, mwana wa Mattasiya, mwana wa Amosi, mwana wa Nakkumu, mwana wa Esuli, mwana wa Naggayi, mwana wa Maasi, mwana wa Mattasiya mwana wa Semeyini, mwana wa Yoseki, mwana wa Yoda, mwana wa Yokanaani, mwana wa Lesa, mwana wa Zerubbaberi, mwana wa Seyalutiyeeri, mwana wa Neeri, mwana wa Mereki, mwana wa Addi, mwana wa Kosamu, mwana wa Erumadamu, mwana wa Eri, mwana wa Yoswa, mwana wa Eryeza, mwana wa Yolimu, mwana wa Mattati, mwana wa Leevi, mwana wa Simyoni, mwana wa Yuda, mwana wa Yusufu, mwana wa Yonamu, mwana wa Eriyakimu, mwana wa Mereya, mwana wa Menna, mwana wa Mattasa, mwana wa Nasani, mwana wa Dawudi, mwana wa Yese, mwana wa Obedi, mwana wa Bowaazi, mwana wa Salumooni, mwana wa Nakusoni, mwana wa Amminadaabu, mwana wa Aluni, mwana wa Kezulooni, mwana wa Pereezi, mwana wa Yuda, mwana wa Yakobo, mwana wa Isaaka, mwana wa Ibulayimu, mwana wa Teera, mwana wa Nakoli, mwana wa Serugi, mwana wa Lewu, mwana wa Peregi, mwana wa Eberi, mwana wa Sera, mwana wa Kayinaani, mwana wa Alupakusaadi, mwana wa Seemu, mwana wa Nuuwa, mwana wa Lameka, mwana wa Mesuseera, mwana wa Enoki, mwana wa Yaledi, mwana wa Makalaleri, mwana wa Kayinaani, mwana wa Enosi, mwana wa Seezi, mwana wa Adamu, mwana wa Katonda. Awo Yesu bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu n'akomawo ng'ava ku mugga Yoludaani, Omwoyo n'amutwala mu ddungu, n'amalayo ennaku ana (40), ng'akemebwa Setaani. So teyalyanga kintu mu nnaku ezo; awo bwe zaggwaako, enjala n'emuluma. Setaani n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.” Yesu n'amuddamu nti, “ Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka.” Awo n'amulinnyisa, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi mu kaseera katono. Setaani n'amugamba nti, “ Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala. Kale nno bw'onoonsinza, buno bwonna bunaaba bubwo.” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.” N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu, n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi; kubanga kyawandiikibwa nti, “Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala; Era nti Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Kyawandiikibwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo.” Setaani bwe yamala buli kikemo n'amulekako ekiseera. Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo. N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe bonna nga bamutendereza. Yesu n'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma. Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'alaba ekitundu awaawandiikibwa nti, “Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi: Antumye okutegeeza abanyage okuteebwa, N'okuzibula abazibe b'amaaso, Okuta abanyigirizibwa, Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwakkirizibwa.” N'abikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza n'atuula; abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro ne bamusimbako amaaso. N'atandika okubagamba nti, “Olwaleero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe.” Bonna ne bamwogerako bulungi, era ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti, “ Ono si ye Mwana wa Yusufu?” N'abagamba nti, “Ddala temulirema kuŋŋamba lugero luno nti Omusawo, weewonye wekka: byonna bye twawulira nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo ky'ewammwe.” Era n'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Tewali nnabbi akkirizibwa mu kyalo ky'ewaabwe. Naye mazima mbagamba nti Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri mu biro bya Eriya, eggulu lwe lyaggalirwa emyaka esatu n'emyezi mukaaga, enkuba nga tetonya enjala nnyingi bwe yagwa ku nsi yonna; Eriya teyatumibwa eri omu ku bo wabula e Zalefasi, mu nsi ya Sidoni, eri omukazi nnamwandu. Era waaliwo abantu bangi abagenge mu Isiraeri mu biro bya Erisa nnabbi; tewali n'omu ku bo eyalongoosebwa, wabula Naamani yekka Omusuuli.” Ne bajjula obusungu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebigambo ebyo; ne bayimuka, ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga ne bamutwala ku kagulungujjo k'olusozi lwe baakubako ekibuga kyabwe, balyoke bamusuule wansi. Naye n'abayitamu wakati n'agenda. Awo Yesu n'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti: ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza. Awo mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko dayimooni; n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Woowe, Otuvunaana ki ggwe, Yesu Omunazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda.” Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “ Sirika, muveeko.” Dayimooni bwe yamusuula wakati waabwe n'amuvaako nga tamukoze kabi. Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Kigambo ki kino? Kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bava ku bantu!” Ettutumu lye ne libuna mu buli kifo eky'ensi eriraanyeewo. Awo Yesu n'asituka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe amuwonye. Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako: amangwago n'agolokoka n'abaweereza. Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, Yesu n'akwata ku buli mulwadde, n'abawonya. Ne badayimooni ne bava ku bantu bangi, ne bakaaba nga bagamba nti, “ Ggwe oli Mwana wa Katonda.” N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga ye Kristo. Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo eteri bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, era ne baagala okumuziyiza aleme okubavaako. Naye n'abagamba nti, “ Kiŋŋwanidde okubuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga ekyo kye kyantumya.” Awo n'abuuliranga mu makuŋŋaaniro g'e Ggaliraaya. Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'ayimiridde ku lubalama lw'ennyanja y'e Genesaleeti, ebibiina ne bimunyigiriza bawulire ekigambo kya Katonda; n'alaba amaato abiri nga gali ku nnyanja: naye abavubi baali bagavuddemu nga booza obutimba bwabwe. Awo n'asaabala mu limu ku maato ago, eryali erya Simooni; n'amugamba okulisembezaayo katono okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiririza ebibiina ng'ali mu lyato. Bwe yali ng'amaze okwogera, n'agamba Simooni nti, “Sembera ebuziba, musuule obutimba bwammwe, muvube.” Simooni n'addamu n'amugamba nti, “ Omwami, twateganye okukeesa obudde ne tutakwasa kintu: naye olw'ekigambo kyo kansuule obutimba ” Awo bwe baakola bwe batyo, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo nnyini; obutimba bwabwe ne bwagala okukutuka; ne bawenya bannaabwe mu lyato eddala, bajje babayambe. Ne bajja ne bajjuza amaato gombi, n'okukka ne gaagala n'okukka. Naye Simooni Peetero, bwe yalaba kino, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'agamba nti, “ Ndeka; Mukama wange, kubanga ndi mwonoonyi ” Kubanga yawuniikirira ne bonna abaali naye olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa; ne Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo, abaali bakolera awamu ne Simooni nabo ne bawuniikirira bwe batyo. Yesu n'agamba Simooni nti, “ Totya: okuva kaakano onoovubanga abantu.” Awo bwe baagobya amaato gaabwe ettale, ne baleka byonna, ne bagenda naye. Awo olwatuuka bwe yali mu kibuga ekimu ku ebyo, laba, waaliwo omuntu eyali ajjudde ebigenge; oyo bwe yalaba Yesu, n'avuunama amaaso ge n'amwegayirira, ng'agamba nti, “Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.” Yesu n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'agamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge bye ne bimuwonako. Yesu n'amukuutira obutabuulirako muntu n'omu; naye n'amulagira nti, “Genda, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagira, okuba omujulirwa gyebali.” Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongezi okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Naye Ye ne yeeyawula n'agenda mu malungu n'asaba. Awo olwatuuka ku lunaku olumu ku ezo, Yesu yali ng'ayigiriza; Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya. Laba, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyali akoozimbye: ne basala amagezi okumuyingiza, n'okumuteeka mu maaso ge. Bwe bataalaba wa kumuyingiriza olw'ekibiina, ne balinnya waggulu ku nju, ne bamuyisa mu matoffaali ne bamussiza ku kitanda kye wakati mu maaso ga Yesu. Awo bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba nti, “ Omuntu, ebibi byo bikuggiddwako.” Abawandiisi n'Abafalisaayo ne batandika okuwakana bokka n'abokka, nga bagamba nti, “ Ani ono ayogera eby'okuvvoola? Ani ayinza okuggyako ebibi, wabula Katonda yekka?” Naye Yesu bwe yategeera okuwakana kwabwe n'addamu n'abagamba nti, “ Muwakana ki mu mitima gyammwe? Ekyangu kiruwa, okugamba nti Ebibi byo bikuggiddwako; oba okugamba nti Golokoka, otambule? Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi.” N'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “ Nkugamba yimuka, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.” Amangwago n'ayimuka, bonna nga balaba, n'asitula ekitanda kye yali agalamiddeko, n'agenda ewuwe, ng'agulumiza Katonda. Okuwuniikirira ne kubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; ne batya nnyo, ne bagamba nti, “ Tulabye eby'ekitalo leero.” Awo oluvannyuma lw'ebyo n'avaayo n'alaba omuwooza erinnya lye Leevi, ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti, “Yita nange.” N'aleka byonna, n'asituka, n'ayita naye. Leevi n'afumbira Yesu embaga nnene mu nnyumba ye: era waaliwo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abalala abaali batudde nabo ku mmere. Abafalisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti, “ Kiki ekibaliisa n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibi?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Abalamu tebeetaaga musawo; wabula abalwadde. Nze sajja kuyita batuukirivu wabula abantu abalina ebibi okwenenya.” Nabo ne bamugamba nti, “ Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo bwe batyo bwe bakola; naye ababo balya, era banywa.” Yesu n'abagamba nti, “ Kale muyinza okusiibya abaana b'obugole, awasizza omugole bw'aba ng'ali nabo? Naye ennaku zirijja; awo awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba mu nnaku ezo.” Era n'abagerera olugero nti, “ Tewali muntu ayuza ku lugoye oluggya ekiwero n'akitunga mu lugoye olukadde; kuba bw'akola bwatyo, ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde era n'ekiwero ky'ayuza ku lugoye oluggya tekifaanana na lugoye lukadde. So tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo ez'amaliba, ne guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana. Naye kigwana omwenge omusu okugufuka mu nsawo ez'amaliba empya. So tewali muntu anywedde ku mwenge omukulu ayagala omuto; kubanga agamba nti, ‘ Omukulu gwe mulungi.’ ” Awo olwatuuka ku ssabbiiti Yesu bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋaano; abayigirizwa be ne banoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya, nga babikunya mu ngalo zaabwe. Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Kiki ekibakoza eky'omuzizo ku ssabbiiti?” Yesu n'abaddamu n'agamba nti, “ Era kino temukisomangako, Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala ye ne be yali nabo; bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'atoola emigaati egy'okulaga n'alya, era n'agiwa ne be yali nabo; egy'omuzizo okulya wabula bakabona bokka?” N'abagamba nti, “ Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.” Awo olwatuuka ku ssabbiiti endala, Yesu n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza; mwalimu omuntu ow'omukono ogwa ddyo gwali gukaze. Awo abawandiisi n'Abafalisaayo ne bamulabiriza, oba ng'anaawonyeza ku ssabbiiti, balyoke balabe bwe banaamuloopa. Naye n'amanya ebirowoozo byabwe, n'agamba omuntu eyalina omukono ogukaze nti, “Situka, oyimirire wakati.” N'asituka n'ayimirira. Awo Yesu n'abagamba nti, “ Mbabuuza mmwe, Kiki ekikkirizibwa ku ssabbiiti? Kukola obulungi, oba kukola bubi, kuwonya bulamu oba kubuzikiriza?” N'abeetoolooza amaaso bonna, n'amugamba nti, “ Golola omukono gwo.” N'akola bw'atyo; omukono gwe ne guwona. Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka na bokka kye banaakola Yesu. Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n'avaayo n'agenda ku lusozi okusaba; n'akeesa obudde ng'asaba Katonda. Awo obudde bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be; mu bo n'alondamu kkumi na babiri, n'abayita abatume; Simooni era gwe yatuuma Peetero, ne Andereya muganda we, ne Yakobo ne Yokaana, ne Firipo ne Battolomaayo, ne Matayo ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwa Zerote, ne Yuda muganda wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe. N'akka nabo, n'ayimirira awatereevu, awaali ekibiina ekinene eky'abayigirizwa be n'abantu bangi abaava e Buyudaaya yonna n'e Yerusaalemi, n'abava ku ttale ly'ennyanja ey'e Ttuulo n'e Sidoni, abajja okumuwuliriza n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe; n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni ne bawonyezebwa. N'ekibiina kyonna ne kisala amagezi okumukomako obukomi: kubanga amaanyi gaavanga mu ye ne gabawonya bonna. Awo Yesu n'ayimusa amaaso ge n'atunulira abayigirizwa be n'agamba nti, “ Mulina omukisa abaavu; kubanga obwakabaka bwa Katonda bwe bwammwe. Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano; kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa, abakaaba kaakano; kubanga muliseka. Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe banaabayitanga ababi, nga babalanga Omwana w'omuntu. Musanyukanga ku lunaku olwo, mubuukanga olw'essanyu: kubanga, laba, empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi. Naye zibasanze mmwe abagagga! kubanga mumaze okuba n'essanyu lyammwe. Zibasanze mmwe abakkuse kaakano! kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano! kubanga mulinakuwala, mulikaaba. Zibasanze, abantu bonna bwe balibasiima! kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi ab'obulimba.” “Naye mbagamba mmwe abawulira nti: Mwagalenga abalabe bammwe, mukolenga bulungi ababakyawa, musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababavuma. Oyo akukubanga ku ttama omukyusizanga n'eddala; n'akuggyangako omunagiro gwo, n'ekkanzu togimugaananga. Buli akusabanga omuwanga; n'oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga nate. Era nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo. Kale bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala. Era bwe mukola obulungi ababakola obulungi mmwe, mwebazibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibi bakola bwe batyo. Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? n'abantu abalina ebibi baazika bannaabwe abalina ebibi, balyoke basasulwe kye babazise. Naye mwagalenga abalabe bammwe mubakolenga bulungi, mwazikenga nga temusuubira kubaddiza; n'empeera yammwe eriba nnyingi, nammwe muliba baana b'Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n'ababi. Mube n'ekisa, nga Kitammwe bw'alina ekisa.” “Era temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga muntu musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa: Mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.” Era n'abagamba n'olugero, nti, “ Omuzibe w'amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Tebagwa bombi mu bunnya? Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza: naye buli muntu bw'alituukirizibwa aliba ng'omuyigiriza. Kiki ekikutunuuliza akantu akali ku liiso lya muganda wo, so tolowooza njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Oba oyinza otya okugamba muganda wo nti Muganda wange, ndeka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo, so nga tolaba njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu akali ku liiso lya muganda wo. Kubanga tewali muti mulungi ogubala ebibala ebibi, newakubadde omuti omubi ogubala ebibala ebirungi. Kubanga buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga ttiini ku busaana, so tebanoga zabbibu ku mweramannyo. Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery'omutima gwe; n'omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.” “Era mumpitira ki Mukama wammwe, Mukama wammwe, so nga temukola bigambo bye njogera? Buli muntu yenna ajja gye ndi n'awulira ebigambo byange era n'abikola, nnaabalaga bw'afaanana: afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba n'asima wansi nnyo, omusingi n'agussa mu lwazi; awo amazzi bwe gayanjaala, omugga ne gukulukutira ku nnyumba eyo lwa maanyi okugisuula, n'okuyinza ne gutayinza na kuginyeenya: kubanga yazimbibwa ku lwazi. Naye oyo awulira n'atakola afaanana ng'omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka n'atasima musingi; awo omugga ne gugikulukutirako lwa maanyi n'egwa amangwago, n'okugwa kw'ennyumba eyo ne kuba kunene.” Awo bwe yamala okwogera ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abantu, n'ayingira mu Kaperunawumu. Awo waaliwo omwami w'ekitongole Omuruumi, omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali ng'alwadde ng'agenda kufa. N'oyo bwe yawulira ebigambo bya Yesu, n'atuma ku bakadde b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okujja okulokola omuddu we. Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo, ne bagamba nti, “Omusajja oyo asaanidde ggwe okumukolera ekyo; kubanga ayagala eggwanga lyaffe, era n'ekkuŋŋaaniro ye yalituzimbira.” Awo Yesu n'agenda nabo. Awo bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omwami oyo n'atuma mikwano gye gy'ali, ng'amugamba nti, “ Ssebo, teweeteganya kujja, kubanga nze sisaanira ggwe kuyingira wansi wa kasolya kange: era kyenvudde nnema okwesaanyiza nzekka okujja gy'oli, naye yogera kigambo bugambo, n'omwana wange anaawona. Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akikola.” Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti, “ Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri.” Awo abantu abaatumibwa bwe baakomawo mu nnyumba, ne basanga omuddu ng'awonye. Awo olwatuuka bwe waayitawo ebbanga ttono n'agenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini; abayigirizwa be n'ekibiina kinene ne bagenda naye. Awo bwe yasembera ku wankaaki w'ekibuga, laba, omulambo nga gufulumizibwa ebweru, gwa mwana nnyina gwe yazaala omu, ne nnyina oyo nga nnamwandu; n'abantu bangi ab'omu kibuga omwo nga bali naye. Awo Mukama waffe bwe yamulaba n'amusaasira, n'amugamba nti, “ Tokaaba.” N'asembera n'akoma ku lunnyo: bali abaali beetisse ne bayimirira. N'agamba nti, “Omulenzi, nkugamba nti Golokoka.” Oyo eyali afudde n'agolokoka, n'atuula n'atandika okwogera. N'amuwa nnyina. Bonna ne batya ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti, “ Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be.” N'ekigambo kye ekyo ne kibuna mu Buyudaaya bwonna ne mu nsi yonna eriraanyeewo. Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bamubuulira ebigambo ebyo byonna. Yokaana n'ayita babiri ku bayigirizwa be n'abatuma eri Mukama waffe, ng'agamba nti, “ Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?” Awo abasajja abo bwe baatuuka gy'ali, ne bamugamba nti, “ Yokaana Omubatiza atutumye gy'oli ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?” Awo mu kiseera ekyo Yesu n'awonya bangi endwadde n'okubonaabona ne dayimooni, n'abazibe b'amaaso bangi n'ebazibula. Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mugende, mubuulire Yokaana ebyo bye mulabye, ne bye muwulidde; abazibe b'amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukira, n'abaavu babuulirwa Enjiri. Era alina omukisa oyo atalinneesittalako.” Awo ababaka ba Yokaana bwe baamala okugenda n'atandika okwogera n'ebibiina ebifa ku Yokaana nti, “ Kiki kye mwagenderera mu ddungu okulaba? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo? Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba, abambala engoye ez'obuyonjo, abalya emmere ennungi, baba mu mpya za bakabaka. Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi. Oyo ye yawandiikibwako nti,” “Laba nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo gy'ogenda.” “Mbagamba nti mu abo abazaalibwa abakazi, temuli asinga Yokaana obukulu: naye omuto mu bwakabaka bwa Katonda ye mukulu okusinga Yokaana.” Abantu bonna, n'abawooza bwe baawulira ne bakkiriza Katonda okuba omutuukirivu, abo bonna abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana. Naye Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaana okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa Yokaana. Yesu n'ayongera n'agamba nti, “Kale abantu ab'emirembe gino n'abafaananya ki? Era balinga ki? Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; ne bagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga. Kubanga Yokaana Omubatiza yajja nga talya mmere so nga tanywa mwenge; ne mugamba nti Aliko dayimooni. Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonna.” Awo Omufalisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere. Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya nga Yesu atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu, n'ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng'akaaba, n'atandika okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n'abisiimuula n'enviiri ez'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago. Awo Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba, n'ayogera munda mu ye nti, “ Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibi.” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Simooni, ndiko kye njagala okukubuulira.” N'agamba nti, “ Omuyigiriza, yogera.” “Waliwo omuntu eyawolanga, naye yalina b'abanja babiri; omu ng'abanjibwa eddinaali bitaano (500), n'omulala ataano (50). Awo bwe baali nga tebalina kya kumusasula n'abasonyiwa bombi. Kale ku abo alisinga okumwagala aluwa?” Simooni n'addamu n'agamba nti, “Ndowooza oyo gwe yasinga okusonyiwa ennyingi.” N'amugamba nti, “ Osaze bulungi.” N'akyukira omukazi oyo, n'agamba Simooni nti, “ Olaba omukazi ono? Nnyingidde mu nnyumba yo, n'otompa mazzi ga bigere byange: naye ono atonnyezza amaziga ge ku bigere byange, n'abisiimuuza enviiri ze. Tonywegedde ggwe, naye ono nnaakayingirira tannalekayo kunywegera bigere byange. Tonsiize mafuta ku mutwe: naye ono ansiize amafuta ag'omugavu ku bigere byange. Kyenva nkugamba nti Asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okwagala kwe kutono.” N'amugamba nti, “ Osonyiyiddwa ebibi byo.” Awo abaali batudde ku mmere naye ne batandika okwogera bokka na bokka nti, “ Ono y'ani asonyiwa n'ebibi?” Yesu n'agamba omukazi nti, “Okukkiriza kwo kukulokodde; genda mirembe.” Awo olwatuuka oluvannyumako katono Yesu n'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'abuulira ng'atenda Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12) nga bali naye, n'abakazi abaawonyezebwako dayimooni n'endwadde, Malyamu eyayitibwa Magudaleene, eyavaako dayimooni omusanvu, ne Yowaana, muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n'abalala bangi abaabaweerezanga n'ebintu bye baalina. Awo ekibiina ekinene bwe kyakuŋŋaanira awali Yesu, awamu n'abaavanga mu buli kibuga bwe bajja w'ali, n'agera olugero nti, “Omusizi yafuluma okusiga ensigo ze; bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo; ne zirinnyirirwa, ennyonyi ez'omu bbanga ne zizirya. Endala ne zigwa ku lwazi; bwe zaamala okumera ne ziwotookerera, olw'obutaba na mazzi. Endala ne zigwa wakati mu maggwa; amaggwa ne gamerera wamu nazo ne gazizisa. Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibalako emmere buli emu n'ebala empeke kikumi (100).” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ayogerera waggulu nti, “ Alina amatu ag'okuwulira awulire.” Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “ Olugero olwo amakulu gaalwo ki?” N'agamba nti, “ Mmwe muweereddwa okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abalala mu ngero; era bwe balaba baleme okulaba, era bwe bawulira baleme okutegeera.” Era olugero lwe luno, “Ensigo kye kigambo kya Katonda. Bali ab'oku mabbali g'ekkubo be bawulira ekigambo; awo Setaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n'okulokolebwa. N'abo ku lwazi be bawulira ekigambo ne bakikkiriza n'essanyu; kyokka tebalina mmizi, bakikkirizaako kaseera katono, naye mu biro eby'okukemebwa ne baterebuka. N'ezo ezaagwa mu maggwa, abo be bawulira ekigambo, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugagga n'essanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukiriza ku kuza mmere. N'ezo ez'omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala ebibala n'okugumiikiriza.” “Era tewali muntu akoleeza ttaala n'agisaanikira mu kibbo, oba okugissa wansi w'ekitanda; naye agissa ku kikondo abayingiramu balabe bw'eyaka. Kubanga tewali kigambo ekyakisibwa ekitalirabisibwa; newakubadde ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kirabika mu lwatu. Kale mwekuumenga bwe muwulira; kubanga buli alina aliweebwa; era buli atalina n'ekyo ky'alowooza nti ali nakyo kirimuggibwako.” Awo nnyina wa Yesu ne baganda be ne bajja gy'ali, ne batayinza kumutuukako olw'ekibiina. Ne bamubuulira nti, “ Nnyoko ne baganda bo bayimiridde ebweru baagala okukulaba.” Naye n'addamu n'abagamba nti, “ Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikola.” Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, Yesu n'asaabala mu lyato ye n'abayigirizwa be; n'abagamba nti, “Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja;” ne bagenda. Awo bwe baali nga baseeyeeya ne yeebaka otulo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nnyanja; amazzi ne gaba nga gaagala okujjula mu lyato, ne baba mu kabi. Ne bajja w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti, “ Mukama waffe, Mukama waffe, tufa.” Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amazzi; ne bikkakkana, ennyanja neteeka. N'abagamba nti, “ Okukkiriza kwammwe kuli luuyi wa?” Ne batya ne beewuunya, ne boogeragana bokka na bokka nti, “ Kale ani ono, kubanga n'empewo n'amazzi abiragira ne bimuwulira? ” Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagoba ku nsi y'Abagerasene etunuulidde e Ggaliraaya. Awo bwe yava mu lyato n'atuuka ku ttale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyaliko dayimooni. Omusajja oyo yali amaze ennaku nnyingi nga tayambala lugoye, era nga ne mu nnyumba tatuulamu, naye ng'abeera mu ntaana. Bwe yalaba Yesu n'ayogerera waggulu n'avuunama mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “ Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waggulu ennyo? Nkwegayiridde, tombonereza.” Kubanga Yesu yali alagidde dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga yali amaze ebbanga ddene nga amukutte: yasibibwanga mu njegere ne mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusiba, dayimooni n'amugoberanga mu ddungu. Yesu n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'agamba nti, “ Liigyoni;” Kubanga dayimooni bangi abaamuyingiramu. Badayimooni ne bamwegayirira aleme okubalagira okumuvaako okugenda mu bunnya. Awo waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nga zirya ku lusozi, badayimooni ne bamwegayirira abalagire baziyingiremu. N'abalagira. Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizzi; eggana ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku lusozi, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi. Awo abasumba bwe baalaba ebibaddewo ne badduka ne babyogera mu kibuga ne mu byalo. Abantu ne bavaayo okulaba ebibaddewo; ne bajja eri Yesu ne balaba omuntu oyo eyavuddeko badayimooni ng'atudde awali ebigere bya Yesu, ng'ayambadde olugoye, ng'okutegeera kwe kumuzzeemu: ne batya. N'abo abaalaba ne babuulira abalala bwe yakoleddwa oyo eyali akwatiddwa badayimooni. N'abantu bonna ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gyebali, kubanga obuti bungi bwali bubakutte: awo n'asaabala mu lyato n'addayo. Naye omuntu eyavaako badayimooni n'amwegayirira abeere naye; naye Yesu n'amusiibula ng'agamba nti, “Ddayo mu nnyumba yo, onnyonnyole ebigambo Katonda by'akukoledde bwe biri ebikulu.” N'agenda ng'abuulira ekibuga kyonna bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Awo Yesu bwe yakomawo, ekibiina ne kimwaniriza n'essanyu; kubanga bonna baali nga bamulindiridde. Kale, laba, omuntu erinnya lye Yayiro omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ajja n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu n'amwegayirira ayingire mu nnyumba ye: kubanga yalina muwala we eyazaalibwa omu nga wa myaka ekkumi n'ebiri (12), oyo yali ng'agenda kufa. Naye bwe yali ng'agenda ebibiina ne bimunyigiriza. N'omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12), ng'awadde abasawo ebintu bye byonna n'atayinza kuwonyezebwa muntu yenna, oyo n'ajja emabega wa Yesu, n'akoma ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangwago ekikulukuto kye ne kikalira. Yesu n'abuuza nti, “ Ani ankomyeko?” Awo bwe beegaana bonna, Peetero ne banne ne bagamba nti, “ Mukama waffe, ebibiina bikwetoolodde bikunyigiriza.” Era ogamba nti, “Ani ankomyeko?” Naye Yesu n'agamba nti, “Omuntu ankomyeko: kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvuddemu.” Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'afukamira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, era ne bw'awonye amangwago. Yesu n'amugamba nti, “ Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.” Awo Yesu yali akyayogera, ne wajja omuntu eyava mu nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'agamba omukulu oyo nti, “Muwala wo afudde; toteganya Muyigiriza.” Naye Yesu bwe yawulira n'amuddamu nti, “ Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu.” Awo bwe yatuuka ku nnyumba n'ataganya muntu mulala kuyingira naye wabula Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne kitaawe w'omuwala ne nnyina. Awo baali nga bakaaba bonna, nga bamulirira; Yesu n'abagamba nti, “ Temukaaba, kubanga tafudde, naye yeebase tulo.” Ne bamusekerera nnyo, kubanga baamanya ng'afudde. Yesu n'amukwata ku mukono n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “ Omuwala, golokoka.” Omwoyo gwe ne gukomawo n'ayimirira amangwago. N'alagira okumuwa eky'okulya. Abazadde be ne bawuniikira; naye ye n'abakuutira baleme kubuulirako muntu yenna ebibaddewo. Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri wamu n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba badayimooni bonna n'okuwonya endwadde. N'abatuma okubuulira ku bwakabaka bwa Katonda, n'okuwonya abalwadde. N'abagamba nti, “Temutwala kintu kya kkubo, newakubadde omuggo, newakubadde olukoba, newakubadde emmere, newakubadde effeeza; so temuba na kkanzu bbiri. Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga. Era bonna abataabakkirizenga, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo, enfuufu ey'omu bigere byammwe mugikunkumulenga ebe omujulirwa gyebali.” Awo ne bagenda ne beetooloola mu bibuga byonna nga babuulira Enjiri, nga bawonya abantu mu buli kifo. Awo kabaka Kerode owessaza n'awulira byonna ebyakolebwa; n'asoberwa nnyo kubanga abantu baagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu;” abalala nti, “Eriya alabise,” n'abalala nti, “Bannabbi ab'edda omu ku bo azuukidde.” Kerode n'agamba nti, “Yokaana nze nnamutemako omutwe: naye oyo ani gwe mpulirako ebigambo ebyenkana awo?” N'ayagala nnyo okumulaba. Awo abatume bwe baamala okukomawo, ne bamunnyonnyola byonna bye baakola. N'abatwala ne yeeyawula n'agenda nabo kyama mu kibuga ekiyitibwa Besusayida. Naye ebibiina bwe baategeera ne bamugoberera; n'abaaniriza, n'ayogera nabo ebigambo by'obwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya. Awo enjuba yali egolooba; abo ekkumi n'ababiri (12) ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Siibula ekibiina bagende mu mbuga ne mu byalo eby'okumpi bafune aw'okusula, banoonye n'eby'okulya; kubanga wano tuli mu ttale jjereere.” N'abagamba nti, “ Mmwe mubawe eby'okulya.” Ne bagamba nti, “Tetulina kintu wabula emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, okuggyako tugende tubagulire eby'okulya abantu bano bonna.” Kubanga baali abasajja ng'enkumi ttaano (5,000). N'agamba abayigirizwa be nti, “Mubatuuze nnyiriri ng'ataano ataano.” Ne bakola bwe batyo, ne babatuuza bonna. N'addira emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso mu ggulu, n'abyebaza n'abimenyamu, n'awa abayigirizwa be okubissa mu maaso g'ekibiina. Ne balya ne bakkuta bonna; ne bakuŋŋaanya obukunkumuka ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri (12). Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'asaba yekka, nga abayigirizwa be baali wamu naye. N'ababuuza ng'agamba nti, “Ebibiina bimpita ani?” Ne baddamu ne bagamba nti, “Yokaana Omubatiza; naye abalala nti Eriya; n'abalala nti Ku bannabbi ab'edda omu ku abo azuukidde.” N'ababuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'addamu n'agamba nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.” Yesu n'abakuutira nga abalagira baleme okubuulirako muntu n'omu ekigambo ekyo; ng'agamba nti, “ Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, era ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa.” N'abagamba bonna nti, “ Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga omusalaba gwe buli lunaku, angoberere. Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe ku lwange oyo alibulokola. Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonna, naye nga ye yeebuzizza oba nga yeetunze? Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi, bw'alijjira mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu. Naye mbagamba mazima nti Waliwo abayimiridde wano abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda.” Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebigambo ebyo nga wayiseewo ennaku munaana, Yesu n'atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusaba. Awo bwe yali ng'asaba, ekifaananyi ky'amaaso ge ne kiba kirala, n'ekyambalo kye ne kiba kyeru nga kimasamasa. Kale, laba, abantu babiri ne boogera naye, abo baali Musa ne Eriya; abaalabika nga balina ekitiibwa, ne boogera ku kufa kwe kw'agenda okutuukiririza mu Yerusaalemi. Awo Peetero ne be yali nabo baali bakwatiddwa otulo: naye bwe baatunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abantu ababiri abayimiridde w'ali. Awo olwatuuka bwe baali bagenda okwawukana naye, Peetero n'agamba Yesu nti, “ Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; tukole ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa, emu ya Eriya;” Yali nga tamanyi ky'ayogera. Awo yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibasiikiriza: bwe baayingira mu kire ne batya. Eddoboozi ne lifuluma mu kire ne ligamba nti, “ Oyo ye Mwana wange gwe nneeroboza: mumuwulire ye.” N'eddoboozi eryo bwe lyamala okwogera, Yesu n'alabika yekka. Nabo ne basirika busirisi, mu ennaku ezo ne batabuulirako muntu kigambo na kimu ku ebyo bye baalaba. Awo olwatuuka ku lunaku olwokubiri, bwe baava ku lusozi, ekibiina kinene ne kimusisinkana. Era, laba, omusajja eyali mu kibiina n'ayogerera waggulu n'agamba nti, “ Omuyigiriza, nkwegayirira okulaba ku mwana wange, kubanga nnamuzaala omu: era, laba, dayimooni amukwata n'akaaba, amangwago n'amutaagula n'okubimba n'abimba ejjovu, era amuvaako lwa mpaka, nga amumenyeemenye nnyo. Nange nneegayiridde abayigirizwa bo okumugobako; ne batayinza.” Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Mmwe ab'emirembe egitakkiriza era egyakyama, ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? Leeta wano omwana wo.” Awo omulenzi bwe yali ng'ajja, dayimooni n'amusuula n'amutaagula nnyo. Naye Yesu n'aboggolera dayimooni, n'awonya omulenzi n'amuddiza kitaawe. Bonna ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda. Naye bonna bwe baali nga beewuunya byonna bye yakola, n'agamba abayigirizwa be nti, “Ebigambo bino mubiwulirize n'obwegendereza: kubanga Omwana w'omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'abantu.” Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, kubanga kyali kibakwekeddwa baleme okukitegeera: ate ne batya okumubuuza ekigambo ekyo bwe kiri. Awo ne wabaawo okuwakana mu bo nga beebuuza ani asinga obukulu mu bo. Naye Yesu bwe yalaba okuwakana mu mitima gyabwe, n'atwala omwana omuto, n'amussa ku lusegere lwe, n'abagamba nti, “ Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng'asembezza nze, na buli anaasembezanga nze, ng'asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu.” Yokaana n'addamu n'agamba nti, “ Mukama waffe, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo, ne tumugaana, kubanga tayita naffe.” Naye Yesu n'amugamba nti, “ Temumugaana; kubanga atali mulabe wammwe, ali ku lwammwe.” Awo olwatuuka ennaku ze ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali zinaatera okutuuka, n'asimbira ddala amaaso ge okugenda e Yerusaalemi, n'atuma ababaka bamukulemberemu; ne bagenda ne bayingira mu mbuga y'Abasamaliya, okumutegekera. Ne batamusembeza kubanga amaaso ge gaali galaze kugenda Yerusaalemi. Abayigirizwa be Yakobo ne Yokaana bwe baalaba ne bagamba nti, “ Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize, nga Eriya bwe yakola?” Naye n'akyuka n'abanenya n'ayogera nti, “ Temumanyi omwoyo bwe guli gwe mulina. Kubanga Omwana w'omuntu teyajja kuzikiriza bulamu bwa bantu, wabula okubulokola.” Awo ne bagenda mu mbuga endala. Awo bwe baali nga bagenda mu kkubo, omuntu omu n'agamba Yesu nti, “ Nnaakugobereranga w'onoogendanga wonna.” Yesu n'amugamba nti, “ Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.” N'agamba omulala nti, “ Ngoberera.” Naye oyo ye n'agamba nti, “ Mukama wange, ndeka mmale okugenda okuziika kitange.” Naye Yesu n'amugamba nti, “ Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda obuulire obwakabaka bwa Katonda.” N'omulala n'agamba nti, “Mukama wange, nnaakugobereranga; naye sooka ondeke mmale okusiibula ab'omu nnyumba yange.” Naye Yesu n'amugamba nti, “ Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n'atunula emabega asaanira obwakabaka bwa Katonda.” Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu (70) n'abatuma kinnababirye okumukulemberamu okugenda mu buli kibuga na buli kifo gy'agenda okujja ye. N'abagamba nti, “Okukungula kwe kungi, naye abakunguzi be batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguzi mu kukungula kwe. Mugende: laba, mbatuma mmwe ng'abaana b'endiga wakati mu misege. Temutwala nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto; so temulamusa muntu mu kkubo. Na buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga okugamba nti Emirembe gibe mu nnyumba muno. Oba nga mulimu omwana w'emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye; naye oba nga si bwe kityo, ate ginaddanga gye muli. Mubeerenga mu nnyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu okuyingira mu ndala. Na buli kibuga kye mutuukangamu, ne babasembeza, mulyanga buli bye bassanga mu maaso gammwe; muwonyenga abalwadde abalimu, mubagambenga nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde kumpi.’ Naye buli kibuga kye mutuukangamu ne batabasembeza, mufulumanga mu nguudo zaakyo, mugambanga nti: N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe, etusaabaanye mu bigere, tugibakunkumulira mmwe; naye mutegeere kino ng'obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mbagamba mmwe nti Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'okusalirwako emisango okusinga ekibuga ekyo.” “Zikusanze, Kolaziini! zikusanze, Besusayida! kubanga, eby'amaanyi ebyakolerwa ewammwe singa byakolerwa e Ttuulo n'e Sidoni, singa beenenya dda nga batudde mu bibukutu n'evvu. Naye Ttuulo ne Sidoni biriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okusinga mmwe. Naawe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda olissibwa okutuuka emagombe. Awulira mmwe, ng'awulidde nze; era anyooma mmwe ng'anyoomye nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantuma.” Awo abo ensanvu (70) ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti, “ Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo.” N'abagamba nti, “ Nnalaba Setaani ng'agwa ng'ali ng'okumyansa okuva mu ggulu. Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono. Naye ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.” Awo mu ssaawa eyo Yesu n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti, “ Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abakalakalaba, n'obibikkulira abaana abato: weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go. Byonna byampeebwa Kitange; tewali muntu amanyi Omwana bw'ali wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira.” N'akyukira abayigirizwa be n'abagamba kyama nti, “ Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba: kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.” Kale, laba, Omuyigiriza w'amateeka n'ayimirira ng'amukema n'agamba Yesu nti, “ Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” N'amugamba nti, “ Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya?” N'addamu n'agamba nti, “ Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka.” N'amugamba nti, “Ozzeemu bulungi; kola bw'otyo, onoobanga n'obulamu.” Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n'agamba Yesu nti, “ Muliraanwa wange ye ani? ” Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng'aserengeta e Yeriko; n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng'abulako katono okufa. Awo kabona yali ng'aserengetera mu kkubo eryo nga tagenderedde; kale bwe yamulaba, n'amwebalama n'ayitawo. N'Omuleevi naye bw'atyo bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'amulaba, n'amwebalama n'ayitawo. Naye Omusamaliya bwe yali ng'atambula, n'ajja w'ali: awo bwe yamulaba n'amukwatirwa ekisa, n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'amaze okubifukamu amafuta n'omwenge; n'amussa ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abagenyi n'amujjanjaba. Awo bwe bwakya enkya n'atoola eddinaali bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba n'amugamba nti Mujjanjabe; n'ekintu kyonna ky'oliwaayo okusukkawo bwe ndikomawo ndikusasula. Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w'oyo eyagwa mu batemu?” N'agamba nti, “ Oli eyamukolera eby'ekisa.” Yesu n'amugamba nti, “Naawe genda okole bw'otyo.” Awo bwe baali bagenda, n'ayingira mu kyalo: omukazi erinnya lye Maliza n'amusembeza mu nnyumba ye. Naye yalina muganda we ayitibwa Malyamu, eyatuulanga awali ebigere bya Mukama waffe n'awulirizanga ekigambo kye. Naye Maliza yabanga n'emitawaana mingi egy'okuweereza; awo n'ajja w'ali, n'amugamba nti, “ Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Kale mugambe annyambe.” Naye Mukama waffe n'addamu n'amugamba nti, “ Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi; naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonzeewo omugabo ogwo omulungi ogutalimuggibwako.” Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'ali mu kifo ekimu ng'asaba, bwe yamala okusaba, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “ Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be.” N'abagamba nti, “ Bwe musabanga, mugambanga nti Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey'olunaku. Era otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa.” N'abagamba nti, “ Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu; kubanga mukwano gwange azze, ava mu lugendo, nange sirina kya kussa mu maaso ge; n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti, ‘Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa?’ Mbagamba nti Newakubadde nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwano gwe, naye olw'okutayirira kwe anaagolokoka n'amuwa byonna bye yeetaaga. Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo. Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo. Era ani ku mmwe kitaawe w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? Oba ekyennyanja, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyennyanja? Oba bw'alisaba eggi, n'amuwa enjaba? Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abo abamusaba.” Yesu yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya. Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni ng'akozesa obuyinza bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.” N'abalala, ne bamwagaza akabonero akava mu ggulu, nga bamukema. Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti, “ Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa. Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? Kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli. Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Bwe batyo kye baliva baba abalamuzi bammwe. Naye bwe mba ngobesa dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde. Omuntu ow'amaanyi ng'alina eby'okulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebintu bye bibeera mirembe: naye amusinga amaanyi bw'amulumba n'amuwangula, amunyagako eby'okulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye. Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.” “Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Kanzireyo mu nnyumba yange mwe nnava. Bw'ajja, agiraba ng'eyereddwa etimbiddwa. Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye.” Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti, “ Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako.” Naye ye n'agamba nti, “ Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.” Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atandika okugamba nti, “ Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, naye tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona. Kuba Yona nga bwe yali akabonero eri ab'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'aliba eri emirembe gino. Kabaka omukazi ow'obukiikaddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasinza omusango: kubanga yava ku nkomerero z'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano. Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano.” “Tewali akoleeza ttaala n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka. Ettaala y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde ekitangaala; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza. Kale weekuumenga ekitangaala kyolina kiremenga okubeera ekizikiza. Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula ekitangaala, nga tegulina kitundu na kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula ekitangaala ng'ettaala bw'ekumulisiza n'ekitangaala kyayo.” Awo Yesu bwe yali ng'akyayogera, Omufalisaayo n'amuyita ewuwe okulya emmere: Yesu n'ayingira n'atuula ku mmere. Omufalisaayo ne yeewuunya bwe yalaba Yesu nga tasoose kunaaba nga tannalya. Mukama waffe n'amugamba nti, “ Mmwe Abafalisaayo munaaza ku ngulu w'ekikompe n'aw'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi. Mmwe abasiru, oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda? Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli.” “Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye obwenkanya n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo. Zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga mwagala entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale. Zibasanze! kubanga mufaanana amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako nga tebagamanyi.” Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'addamu n'amugamba nti, “ Omuyigiriza, bw'ogamba bw'otyo ovuma naffe.” N'agamba nti, “ Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe. Zibasanze! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, naye bajjajjammwe be baabatta. Bwe mutyo muli bajulirwa nti musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo batta bannabbi, nammwe muzimba amalaalo gaabwe. N'amagezi ga Katonda kye gaava gagamba nti Ndibatumira bannabbi n'abatume; abamu ku bo balibatta balibayigganya; omusaayi gwa bannabbi bonna, ogwayiika okuva ku kutondebwa kw'ensi, kyeguliva guvunaanibwa abantu ab'emirembe gino; okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne Yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulivunaanibwa abantu ab'emirembe gino. Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza.” Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batandika okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi; nga bamutega mu bigambo, bawulire ebinaava mu kamwa ke, balyoke bamuwawaabire. Mu biro ebyo abantu b'ekibiina nkumi n'ankumi bwe baali bakuŋŋaanye n'okulinnyaganako ne balinnyaganako, Yesu n'asookera ku bayigirizwa be n'abagamba nti, “ Mwekuumenga ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo, bwe bunnanfuusi. Naye tewali ekyabikkibwa ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakisibwa ekitalitegeerwa. Kale byonna bye mwali mwogeredde mu kizikiza biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwali mwogedde mu kaama mu bisenge kiribuulirirwa ku kasolya k'ennyumba.” “Era mbagamba mmwe, mikwano gyange, nti Temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma nga tebalina kigambo kisingawo kye bayinza kukola. Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga. Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? Naye tewali n'emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. Naye n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zibaliddwa zonna. Temutyanga: mmwe muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.” “Era mbagamba nti Buli alinjatulira mu maaso g'abantu, oyo Omwana w'omuntu naye alimwatulira mu maaso ga bamalayika ba Katonda; naye anneegaanira mu maaso g'abantu alyegaanirwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda. Na buli muntu ayogera ekigambo ku Mwana w'omuntu kirimusonyiyibwa: naye oyo avvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa. Era bwe babatwalanga mu makuŋŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaddamu oba kye munaayogera; kubanga Omwoyo Omutukuvu anaabayigirizanga mu kiseera ekyo ebibagwanidde okwogera.” Awo omuntu omu ow'omu kibiina n'amugamba nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by'obusika bwaffe.” Naye ye n'amugamba nti, “Omuntu, ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba omugabi w'ebyobusika byammwe?” N'abagamba nti, “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo.” N'abagerera olugero ng'agamba nti, “ Waaliwo omuntu omugagga, ennimiro ye n'eyeza: n'alowooza munda mu ye ng'agamba nti Nnaakola ntya, kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange? N'agamba nti Nnaakola bwe nti: nnaamenya amawanika gange ne nzimba amalala agasinga obunene; ne nkuŋŋaanyiza omwo emmere yange enkalu yonna n'ebintu byange. Ndigamba emmeeme yange nti Emmeeme, olina ebintu bingi ebiterekeddwa eby'emyaka emingi; wummula, olye, onywe, osanyuke. Naye Katonda n'amugamba nti Musiru ggwe, mu kiro kino emmeeme yo banaagikuggyako; kale ebintu by'otegese binaaba by'ani? Bw'atyo bw'ali eyeeterekera obugagga, so nga si mugagga eri Katonda.” N'agamba abayigirizwa be nti, “ Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala. Kubanga obulamu businga emmere, n'omubiri gwa muwendo okusinga eby'okwambala. Mulowooze bannamuŋŋoona, tebasiga so tebakungula; tebalina tterekero, newakubadde eggwanika; naye Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi? Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku bulamu bwe? Kale bwe mutayinza kukola ekisinga obutono, kiki ekibeeraliikiriza ebirala? Mulabe amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbagamba nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambalanga ng'erimu ku go. Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'oku ttale, ogubaawo leero, enkya nga bagusuula ku kikoomi; talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? Nammwe temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, so temubanga na myoyo egibuusabuusa. Kubanga ebintu ebyo byonna binoonyezebwa amawanga ag'ensi: naye Kitammwe amanyi nga mwetaaga ebyo. Naye munoonye obwakabaka bwe, n'ebintu ebyo mulibyongerwako.” “Totyanga, ggwe ekisibo ekitono; kubanga Kitammwe asiima okubawa mmwe obwakabaka. Mutundenga bye muli nabyo, muwengayo eby'okusaasira; mwetungirenga ensawo ezitakaddiwa, obugagga obutaggwaawo mu ggulu; omubbi gy'atasembera, n'ennyenje gye zitayonoonera. Kubanga obugagga bwammwe gye buli, n'emitima gyammwe gye giribeera.” “Mwesibenga ebimyu mu biwato byammwe, n'ettaala zammwe nga zaaka; nammwe bennyini mubeerenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'aliddira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'alijja n'akoona ku luggi, bamuggulirewo amangwago. Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja b'alisanga nga batunula; mazima mbagamba ng'alyesiba n'abatuuza ku mmere, n'ajja n'abaweereza. Awo bw'alijja mu kisisimuka eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga bw'atyo, balina omukisa abaddu abo. Naye mutegeere kino, nga nnannyini nnyumba singa amanya ekiseera omubbi w'anajjira, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa. Nammwe mweteeketeekenga: kubanga Omwana w'omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza.” Peetero n'agamba nti, “ Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, nantiki olugeredde bonna?” Mukama waffe n'agamba nti, “ Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo? Alina omukisa omuddu oyo mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. Mazima mbagamba ng'alimusigira byonna by'ali nabyo. Naye omuddu oyo bw'alyogera mu mutima gwe nti Mukama wange aludde okujja; n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira; kale mukama w'omuddu oyo alijja ku lunaku lw'atamulowoolezaako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abatakkiriza. N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, kyokka n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi; naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.” “Najja kukoleeza muliro ku nsi; nagwo oba nga kaakano gwaka, njagala ki? Naye nnina okubatizibwa kwe ndibatizibwa; nange nga mbonaabona okutuusa lwe kulituukirizibwa! Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti Nedda; wabula okwawukana obwawukanyi; kubanga okutandika kaakano walibaawo bataano mu nnyumba emu nga baawukanye, abasatu n'ababiri, era ababiri n'abasatu. Balyawukana, kitaawe n'omwana we, era omwana ne kitaawe; nnyina ne muwala we, era omuwala ne nnyina; era nnyazaala ne muka mwana we, era muka mwana we ne nnyazaala we.” Yesu n'agamba ebibiina nti, “ Bwe mulaba ekire nga kyekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti Enkuba eneetonnya; era bwe kiba bwe kityo. Bwe mulaba empewo ng'efuluma e bukiikaddyo mugamba nti, ‘ Linaaba bbugumu;’ era bwe kiba. Bannanfuusi, mmwe mumanyi okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eggulu; naye kiki ekibalobera okumanya n'okukebera obudde buno?” “Era nammwe mwekka ekibalobera okusalawo ekituufu kiki? Kubanga bw'oba ogenda n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu kkubo okutabagana n'akuvunaana; aleme okukutwala ewa katikkiro, ne katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu kkomera. Nkugamba nti Toliva omwo n'akatono, okutuusa lw'olisasulirira ddala buli ssente.” Awo mu biro ebyo waaliwo abantu abaali bali awo, ne baabuulira Yesu eby'Abagaliraaya bali, Piraato be yatabulira omusaayi gwabwe ne ssaddaaka zaabwe. Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mulowooza nga Abagaliraaya abo kubanga baabonyaabonyezebwa bwe batyo baali boonoonyi okusinga Abagaliraaya abalala bonna? Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira bwe mutyo. Oba bali ekkumi n'omunaana (18), ekigo eky'omu Sirowamu be kyagwako ne kibatta, mulowooza baali bakozi ba bubi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemi? Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mwenna mulizikirira bwe mutyo.” N'ayogera olugero luno nti, “ Waaliwo omuntu eyalina omuti omutiini ogwali gusimbiddwa mu lusuku lwe olw'emizabbibu; n'ajja ng'agunoonyaako ebibala n'atabiraba. N'agamba omulimi nti Laba, leero emyaka esatu nga njija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne ssibiraba, guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere? Kyokka omulimi n'addamu n'amugamba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera, nguteekeko n'obusa; bwe gulibala ebibala oluvannyuma, kirungi; naye oba nga si bwe kityo, oligutema.” Awo ku lunaku lwa ssabbiiti Yesu yali ng'ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro. Era, laba, waaliwo omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka kkumi na munaana (18); ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono. Awo Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti, “Omukazi, osumuluddwa obulwadde bwo.” N'amussaako n'emikono gye, amangwago omukazi n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda. Naye omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga kubanga Yesu awonyezza omuntu ku ssabbiiti, n'addamu n'agamba ekibiina nti, “ Waliwo ennaku omukaaga ezigwana okukolerangako emirimu: kale mujjirenga ku ezo okuwonyezebwa, naye si ku lunaku lwa ssabbiiti.” Naye Mukama waffe n'amuddamu n'agamba nti, “ Bannanfuusi mmwe, buli omu ku mmwe ku lunaku lwa ssabbiiti tayimbula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywesa? Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibibwa Setaani okumala emyaka kkumi na munaana (18), tagwanidde kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa ssabbiiti?” Awo bwe yali ng'ayogera ebyo, abalabe be bonna ne baswala: n'ekibiina kyonna ne basanyukira byonna eby'ekitiibwa bye yakola. Yesu kyeyava agamba nti, “ Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Era nnaabugeraageranya na ki? Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.” Yesu era n'agamba nti, “ Obwakabaka bwa Katonda nnaabufaananya na ki? Bufaanana ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akikisa mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.” Awo Yesu n'atambula ng'ayita mu bibuga ne mu byalo ng'ayigiriza ng'agenda e Yerusaalemi. Omuntu omu n'amubuuza nti, “ Mukama wange, be batono abalokolebwa?” Yesu n'amuddamu nti, “Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbagamba nti bangi abalinoonya okuyingira, so tebaliyinza. Nannyini nnyumba bw'alimala okusituka, n'aggalawo oluggi, muliyimirira ebweru, ne mutandika okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva; ne mulyoka mutandika okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe; kale aligamba nti Mbagamba nti simanyi gye muva: muve we ndi, mwenna abakola ebitali bya butuukirivu. Eyo eribaayo okukaaba n'okulumwa obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru. Balijja nga bava ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, balituula ku mbaga mu bwakabaka bwa Katonda. Era, laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.” Mu kiseera ekyo kyennyini Abafalisaayo ne bajja, ne bamugamba nti, “ Va wano, ogende: kubanga Kerode ayagala kukutta.” N'abagamba nti, “ Mugende mugambe ekibe ekyo nti Laba, ngoba baddayimooni, mponya abantu leero n'enkya ne ku lunaku olwokusatu ndituukirizibwa. Naye kiŋŋwanidde okutambulako leero n'enkya n'olunaku oluddirira; kubanga tekiyinzika nnabbi kuzikiririra bweru wa Yerusaalemi. Ggwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumibwa gy'oli! emirundi emeka nga njagala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanyiza obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye ne mutakkiriza! Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa; era mbagamba nti Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’” Awo olwatuuka Yesu bwe yayingira ku ssabbiiti mu nnyumba y'omukulu w'Abafalisaayo omu okulya emmere ne bamulabiriza. Era, laba, waaliwo omuntu mu maaso ge, eyali alwadde entumbi. Yesu n'addamu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafalisaayo ng'agamba nti, “ Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo?” Naye ne basirika. N'amukwatako n'amuwonya, n'amusiibula. N'abagamba nti, “ Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba nte ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangu ago ku lunaku lwa Ssabbiiti?” Ne batayinza kumuddamu ekyo. Yesu bwe yalaba abo abaayitibwa ku mbaga engeri gye beeroboza ebifo eby'oku mwanjo; n'abagerera olugero n'abagamba nti, “Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo kya ku mwanjo, mpozzi waleme okubaawo omulala akusinga ekitiibwa gw'ayise, n'oli eyabayise mwembi n'ajja, n'akugamba nti Segulira ono mu kifo; n'olyoka ogenda okutuula mu kifo eky'emabega ng'oswadde. Naye bw'oyitibwanga ogendanga n'otuula mu kifo eky'emabega, oli eyakuyise bw'ajja, akugambe nti Mukwano gwange, sembera eno ku mwanjo; n'olyoka obeera n'ekitiibwa mu maaso g'abo bonna b'otudde nabo ku mmere. Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.” Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti, “ Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; si kulwa nga nabo bakuyita, ne wabaawo okukusasula. Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso, era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: Katonda alikusasulira mu kuzuukira kw'abatuukirivu.” Awo omu ku abo abaali batudde awamu naye ku mmere, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti, “ Alina omukisa aliriira emmere mu bwakabaka bwa Katonda.” Naye Yesu n'amugamba nti, “ Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene; n'ayita bangi: n'atuma omuddu we obudde obw'embaga nga butuuse okugamba bali abayitiddwa, nti Mujje; kubanga bimaze okutegekebwa. Bonna n'emmeeme emu ne batandika okwegayirira okusonyiyibwa. Ow'olubereberye n'amugamba nti, ‘Nguze olusuku, kiŋŋwanidde okuyimuka okugenda okululaba; nkwegayiridde nsonyiwa.’ N'omulala n'agamba nti, ‘Nguze emigogo gy'ente etaano, ŋŋenda kuzigezesa, nkwegayiridde nsonyiwa.’ N'omulala n'agamba nti, ‘Mpasizza omukazi, n'olwekyo siyinza kujja.’ Awo omuddu oyo n'addayo n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyini nnyumba n'alyoka asunguwala n'agamba omuddu we nti, ‘Fuluma mangu ogende mu nguudo ne mu makubo ag'ekibuga, oleete wano abaavu n'abalema n'abazibe b'amaaso n'abawenyera.’ Omuddu n'agamba nti, ‘ Mukama wange, ky'olagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebifo.’ Mukama we n'agamba omuddu nti, ‘Fuluma ogende mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule.’ Kubanga mbagamba nti, ‘Bali abaayitibwa, tewali n'omu alirya ku mbaga yange.’” Awo ebibiina binene byali bigenda ne Yesu; n'akyuka n'abagamba nti, “Omuntu bw'anajjanga gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange. Buli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'angoberera, taayinzenga kuba muyigirizwa wange. Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala? Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi n'atasobola kugimaliriza, bonna abalaba batandika okumusekerera, nga bagamba nti Omuntu ono yatandika okuzimba n'atasobola kumaliriza. Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasooka kutuula n'ateesa, oba ng'ayinza n'abantu omutwalo ogumu (10,000), okwaŋŋanga oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri (20,000)? Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana. Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.” “Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki? Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.” Awo abawooza bonna n'abalina ebibi baali nga bamusemberera okumuwuliriza. Abafalisaayo era n'abawandiisi ne beemulugunya, nga bagamba nti, “ Ono asembeza abalina ebibi, era alya nabo.” Awo Yesu n'abagerera olugero luno, ng'agamba nti, “Muntu ki ku mmwe alina endiga ekikumi (100), bw'abulwako emu, ataleka ziri ekyenda mu omwenda (99) ku ttale, n'agenda okunoonya eri eyabuze, okutuusa lw'aligiraba? Kale bw'agiraba, agissa ku kibegabega kye ng'asanyuka. Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyabadde ebuze. Mbagamba nti Bwe kityo linaabanga ssanyu mu ggulu olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda (99), abateetaaga kwenenya.” “Oba mukazi ki alina erupiya ekkumi (10), bw'abulwako erupiya emu, atakoleeza ttaala n'ayera ennyumba, n'anyiikira okunoonya okutuusa lw'agizuula? Bw'agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n'agamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde erupiya eyabadde embuze. Mbagamba nti Bwe kityo liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya.” N'agamba nti, “Waaliwo omuntu eyalina batabani be babiri: omuto n'agamba kitaawe nti, Kitange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋŋwanidde. Kale n'abagabanyiza ebintu eby'obulamu bwe. Awo oluvannyuma lw'ennaku si nnyingi, omwana oyo omuto n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'atambula n'agenda mu nsi ey'ewala; n'asaasaanyiza eyo ebintu bye mu mpisa embi. Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala nnyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atandika okudaagana. N'agenda ne yeegatta n'omwami ow'omu nsi eyo; omwami oyo n'amusindika mu kyalo kye okulundanga embizzi. Ne yeegombanga okukkuta ebikuta embizzi bye zaalyanga: ne watabaawo muntu amuwa. Naye bwe yeddamu, n'agamba nti, Abaweereza bameka ab'empeera aba kitange abakkuta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala! N'agolokoka ne ŋŋenda eri kitange, mmugambe nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo; nfuula ng'omu ku baweereza bo ab'empeera. N'agolokoka n'agenda eri kitaawe. Naye yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'amusaasira, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera nnyo. Oyo omwana n'amugamba nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo. Naye kitaawe n'agamba abaddu be nti, Mugende muleete mangu olugoye olusinga zonna, mulumwambaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere bye: muleete n'ennyana eya ssava, mugitte, tulye, tusanyuke; kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse. Ne batandika okusanyuka.” “Naye omwana we omukulu yali mu kyalo; bwe yajja ng'anaatera okutuuka ku nnyumba, n'awulira eŋŋoma n'amazina. N'ayita omu ku baddu, n'amubuuza ebyo bwe bibadde. N'amugamba nti, Muganda wo azze: ne kitaawo amuttidde ennyana eya ssava kubanga amuzaawudde nga mulamu. Naye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira: awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira. Naye ye n'addamu n'agamba kitaawe nti, Laba, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so sikusobyanga n'akatono ky'ondagidde; nange ennaku zonna tompanga wadde na kabuzi nsanyukeko ne mikwano gyange; naye omwana wo oyo, eyalya ebintu eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'azze, ng'omuttira ennyana eya ssava. Kitaawe n'amugamba nti, Mwana wange, ggwe bulijjo ng'oli wamu nange, era byonna ebyange bye bibyo. Naye okujaguza n'okusanyuka kwa nsonga: kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde; era yali azaaye, azaawuse.” Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “ Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we; omuwanika oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaasaanya ebintu bye. N'amuyita n'amugamba nti Kiki kino kye mpulira ku ggwe? Bala omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga tokyayinza nate kubeera muwanika. Oyo omuwanika n'ayogera munda mu ye nti Nnaakola ntya, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika bwange? Sirina galima; ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza. Mmanyi kye nnaakola, bwe nnaagobebwa mu buwanika, bansembeze mu nnyumba zaabwe. N'ayita buli alina ebbanja lya mukama we, nnaagamba ow'olubereberye nti, ‘Mukama wange akubanja ki?’ N'agamba nti, ‘Ebigera by'amafuta kikumi (100).’ Nnaamugamba nti, ‘ Twala ebbaluwa yo, otuule mangu owandiike ataano (50).’ Ate nnaagamba omulala nti, ‘Naawe obanjibwa ki?’ N'agamba nti, ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi (100).’ Nnaamugamba nti, ‘Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana (80).’ Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omukumpanya kubanga akoze bya magezi: kubanga abaana ab'ebiro bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana. Nange mbagamba nti Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo. Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi. Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima? Era bwe mutaabenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyammwe ani alikibawa? Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omulala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.” Awo Abafalisaayo, abaali abaagazi b'effeeza, ne bawulira ebyo byonna; ne bamusekerera. N'abagamba nti, “ Mmwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maaso g'abantu; naye Katonda amanyi emitima gyammwe; kubanga ekigulumizibwa mu bantu kya muzizo mu maaso ga Katonda. Amateeka ne bannabbi byaliwo okutuuka ku Yokaana: okuva olwo Enjiri y'obwakabaka bwa Katonda ebuulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maanyi. Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga ennukuta emu ey'amateeka okuggwaawo. Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.” “Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, eyabeeranga bulijjo mu kwesiima ng'asanyuka: era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo, eyali awummusewummuse amabwa eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo, nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zikombereranga amabwa ge. Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika n'assibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga naye n'afa, n'aziikibwa. Ng'ali mu kulumizibwa kungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Ibulayimu ng'ali wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye. N'ayogerera waggulu n'agamba nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, awozeewoze olulimi lwange; kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’ Naye Ibulayimu n'amugamba nti, ‘ Mwana wange, jjukira nga ggwe waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo yaweebwanga ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa. Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gyetuli.’ N'agamba nti, ‘ Kale, nkwegayiridde, kitange, otume Lazaalo mu nnyumba ya kitange; kubanga nnina baganda bange bataano; abalabule baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa.’ Naye Ibulayimu n'agamba nti, ‘ Balina Musa ne bannabbi; bawulirenga abo.’ N'agamba nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gyebali balyenenya.’ N'amugamba nti, ‘ Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.’” Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Ebyesittaza tebiyinza butajja; naye zimusanze oyo abireeta! Waakiri oyo okusibibwa olubengo mu bulago bwe, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga okwesittaza omu ku abo abato. Mwekuumenga mwekka na mwekka, muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga. Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi egyo omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.” Abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “ Otwongereko okukkiriza.” Mukama waffe n'agamba nti, “ Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.” “Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu otuule olye; naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe? Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa? Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti, ‘ Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.’” Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi, yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya. Awo bwe yayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi (10) ne bamusisinkana, ne baayimirira walako; ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “ Yesu, Mukama waffe, otusaasire.” Bwe yabalaba n'abagamba nti, “Mugende mwerage eri bakabona.” Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa. Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene; n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya. Yesu n'addamu n'agamba nti, “Ekkumi (10) bonna tebalongoosebbwa? Naye bali omwenda bali ludda wa? Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono?” N'amugamba nti, “ Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” N'abaddamu n'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese: so tebaligamba nti Laba, buli wano! oba nti buli wali! kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.” N'agamba abayigirizwa be nti, “Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba. Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temubagobereranga; kubanga ng'okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oluuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe. Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa ab'emirembe gino. Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z'Omwana w'omuntu. Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna. Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula, nga batunda, nga basiga, nga bazimba, naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna: bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa. Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga mabega. Mujjukire mukazi wa Lutti. Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya. Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. [Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.”] Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti, “ Awaba omulambo n'ensega we zikuŋŋaanira.” Yesu n'abagerera olugero, bwe kibagwanira okusabanga bulijjo, obutakoowanga; n'agamba nti, “ Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, ataatyanga Katonda, era nga tassaamu muntu kitiibwa; era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; eyajjanga ew'omulamuzi oyo, ng'agamba nti, Nnamula n'omulabe wange.” Omulamuzi n'atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n'ayogera munda mu ye nti, “ Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa; naye olw'okunteganya nnamwandu ono kw'anteganyiza nnaamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata.” Mukama waffe n'agamba nti, “ Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'agamba. Kale ne Katonda taliramula balonde be abamukaabirira emisana n'ekiro, ng'akyagumiikiriza? Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?” N'abalala abaali beerowoozako ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, Yesu n'abagerera olugero luno nti, “Abantu babiri baalinnya mu Yeekaalu okusaba, omu Mufalisaayo, omulala muwooza. Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti, ‘Ayi Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza. Nsiiba emirundi ebiri mu ssabbiiti; mpaayo ekitundu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna’ Naye omuwooza n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu, naye ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti, ‘Ayi Katonda, onsaasire nze alina ebibi.’ Mbagamba nti Oyo yakka okuddayo mu nnyumba ye ng'aweereddwa obutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.” Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera. Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti, “ Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe. Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.” N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” Yesu n'amugamba nti, “ Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi wabula omu yekka, ye Katonda. Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.” N'agamba nti, “ Ebyo byonna nnabikwatanga okuva mu buto bwange.” Yesu bwe yawulira ekyo n'amugamba nti, “ Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.” Naye bwe yawulira ebyo n'anakuwala nnyo kubanga yali mugagga nnyo. Awo Yesu bwe yalaba n'agamba nti, “ Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! Kubanga kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Abaawulira ebyo ne bagamba nti, “ Kale ani ayinza okulokoka?” Naye Yesu n'agamba nti, “ Ebitayinzika eri abantu biyinzika eri Katonda.” Peetero n'agamba nti, “ Laba, ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera.” N'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda, ataweebwa nate emirundi mingi mu biro bino, ne mu biro ebigenda okujja obulamu obutaggwaawo.” Yesu n'atwala abo ekkumi n'ababiri (12) n'abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi ku Mwana w'omuntu birituukirira. Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga aliduulirwa, aliswazibwa, aliwandirwa amalusu: balimukuba enkoba balimutta; era ku lunaku olwokusatu alizuukira.” Abayigirizwa be ne batategeererawo ku ebyo n'ekimu n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa. Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'anaatera okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaaso yali ng'atudde ku kkubo ng'asabiriza; awo bwe yawulira ekibiina nga kiyita, n'abuuza nti, “kiki ekyo.” Ne bamubuulira nti, “ Yesu Omunazaaleesi ayita.” N'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “ Yesu, omwana wa Dawudi, onsaasire.” N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “ Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire.” Yesu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembera okumpi n'amubuuza nti, “ Oyagala nkukolere ki?” N'addamu nti, “ Mukama wange, njagala okuzibula.” Yesu n'amugamba nti, “Zibula: okukkiriza kwo kukulokodde.” Amangwago n'azibula, n'amugoberera ng'agulumiza Katonda: n'abantu bonna bwe baalaba ne batendereza Katonda. Yesu n'ayingira mu kibuga Yeriko n'aba ng'akiyitamu. Kale, laba, waaliwo omusajja erinnya lye Zaakayo, eyali omukulu w'abawooza, era nga mugagga. N'asala amagezi okulaba Yesu bw'ali; n'atasobola olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yali mumpi. N'adduka n'abakulembera n'alinnya ku muti omusukomooli alabe Yesu: kubanga yali agenda kuyita mu kkubo eryo. Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti, “ Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwanidde okutuula mu nnyumba yo.” N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka. Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza, nga bagamba nti, “ Ayingidde okusula omw'omuntu alina ebibi.” Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti, “ Mukama wange, laba ekitundu ky'ebintu byange nkiwa abaavu; era oba nga waliwo omuntu yenna gwe nnalyazaamaanya ekintu kye, mmuliyira emirundi ena.” Yesu n'amugamba nti, “ Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubanga naye mwana wa Ibulayimu. Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.” Awo bwe baawulira ebyo, Yesu ne yeeyongera n'abagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga baali balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bugenda kulabika mangwago. Kyeyava agamba nti, “ Waaliwo omuntu omukulu eyagenda mu nsi y'ewala, okulya obwakabaka alyoke akomewo. N'ayita abaddu be kkumi (10), n'abawa siringi bibiri (200), n'abagamba nti Musuubuzenga ensimbi zino okutuusa we ndijjira. Naye abasajja be ne bamukyawa, ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti, ‘Tetwagala oyo kutufuga.’ Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okulya obwakabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, alyoke amanye amagoba ge bafuna. Ow'olubereberye n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, siringi zo abiri (20) zewampa zaakola amagoba ga siringi bibiri (200).’ N'amugamba nti, ‘Weebale, omuddu omulungi: kubanga wali mwesigwa ku kintu ekitono ennyo, kale on'oba n'obuyinza okufuga ebibuga kkumi (10).’ Ow'okubiri n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, siringi zo abiri (20) zaakola amagoba ga siringi kikumi (100).’ N'oyo n'amugamba nti, ‘Naawe ojja kufuga ebibuga bitaano.’ N'omulala n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, laba, siringi zo zino abiri (20) nnazisiba mu kiwero nnenzitereka: Kubanga nnakutya kubanga oli muntu mukakanyavu: olonda ky'otaateekawo, okungula ky'otaasiga.’ N'amugamba nti, ‘ Akamwa ko ke kanaakunsaliza omusango, ggwe omuddu omubi. Wali omanyi nga ndi muntu mukakanyavu, nga nnonda kye ssaateekawo, nga nkungula kye ssaasiga; kale kiki ekyakulobera okuwa siringi zange abasuubuzi, nange bwe nnandizze nnandizitutte n'amagoba gaazo?’ N'agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko siringi ze, muziwe oyo alina siringi ebibiri (200).’ Ne bamugamba nti, ‘ Mukama waffe, alina siringi bibiri (200).’ Mbagamba nti, ‘Buli alina aliweebwa; naye oyo atalina, era ekyo kyali nakyo kirimuggibwako. Naye abo abalabe bange abatayagala nze kubafuga, mubaleete wano mu batte nga ndaba.’” Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akulembera n'ayambuka e Yerusaalemi. Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'anaatera okutuuka e Besufaage n'e Bessaniya, okumpi n'olusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n'atuma babiri ku bayigirizwa be, ng'abagamba nti, “Mugende mu mbuga eri mu maaso gammwe; bwe munaayingira omwo munaalaba omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa oguteebagalwangako muntu: mugusumulule muguleete. Era omuntu bw'ababuuza nti, ‘Mugusumululira ki?’ Mumugambe bwe muti nti, ‘ Mukama waffe ye agwetaaga.’” N'abo abaatumibwa ne bagenda, ne basanga byonna nga biri nga bwe yabagamba. Awo bwe baali nga basumulula omwana gw'endogoyi, bannannyini gwo ne babagamba nti, “Musumululira ki omwana gw'endogoyi ogwo?” Ne bagamba nti, “Mukama waffe ye agwetaaga.” Ne baguleeta eri Yesu: ne baaliirira engoye zaabwe ku mwana gw'endogoyi, ne beebagazaako Yesu. Awo yali ng'agenda, abantu ne baaliirira engoye zaabwe mu luguudo. Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka mu kikko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky'abayigirizwa ne batandika okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eddoboozi ddene olw'eby'amagero byonna bye baalaba; nga bagamba nti, “Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe waggulu ennyo.” Abafalisaayo abamu abaali mu kibiina ky'abantu ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja amangwago ganaayogerera waggulu.” Awo bwe yasembera okumpi, n'alaba ekibuga n'akikaabira, ng'agamba nti, “Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe! naye kaakano bikwekeddwa amaaso go. Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna, balikusuula wansi, n'abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.” N'ayingira mu Yeekaalu, n'agobamu abaali batundiramu ng'abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti Era ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.” Awo n'ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikiriza: ne batalaba kye banaakola; kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwulira. Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, Yesu yali ng'ayigiriza abantu mu Yeekaalu, ng'abuulira Enjiri, bakabona abakulu n'abawandiisi wamu n'abakadde ne bajja; ne boogera naye ne bamugamba nti, “ Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo?” N'addamu n'abagamba nti, “ Nange ka mbabuuze ekigambo kimu; mmumbuulire: okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu nantiki mu bantu?” Ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti, “ Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaatubuuza nti Kiki ekyabalobera okumukkiriza? Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi.” Ne baddamu nti tebamanyi gye kwava. Yesu n'abagamba nti, “ Kale nange siibabuulire mmwe buyinza obunkoza bino gye bwava.” N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti, “ Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo. Awo mu biro eby'amakungula, abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kintu. N'ayongera okutuma omuddu omulala; n'oyo ne bamukuba, ne bamuswaza ne bamusindika nga talina kintu. N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo naye ne bamufumita ne bamugoba. Nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa.’ Naye abalimi bwe baamulaba, ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ye musika: tumutte, obusika bube bwaffe. Ne bamugoba mu lusuku lw'emizabbibu ne bamutta. Kale nnannyini lusuku olw'emizabbibu alibakola atya? Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala.” Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti, “Ebyo bireme okubaawo.” Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti, “Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti, “Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda? Buli agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka; era oyo gwe lirigwako, lirimubetenta.” Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumukwata mu kiseera ekyo; ne batya abantu, kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero. Ne bamulabiriza, ne batuma abakessi nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, balyoke bamuweeyo eri omufuzi owessaza n'eri obuyinza bwe. Ne bamubuuza, nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, tumanyi ng'oyogera era ng'oyigiriza eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyigiriza mazima ekkubo lya Katonda: Kirungi ffe okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?” Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti, “ Kale munkemera ki? Mundage eddinaali. Ekifaananyi ekiriko n'obuwandiikeko by'ani?” Bo ne bagamba nti, “ Bya Kayisaali.” N'abagamba nti, “ Kale ebya Kayisaali mubisasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mubisasulenga Katonda.” Ne batayinza kumukwasa mu nsonga yonna mu kigambo ekyo kye yayogerera mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika. Abasaddukaayo abamu abagamba nti tewali kuzuukira ne bajja gy'ali, ne bamubuuza, nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde. Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa nga talina mwana; n'ow'okubiri; n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bonna omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana. Oluvannyuma n'omukazi naye n'afa. Kale mu kuzuukira aliba muk'ani ku abo? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.” Yesu n'abagamba nti, “ Abaana b'ensi eno bawasa, era bafumbirwa, naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbirwa, kubanga baliba tebaakyafa nate: kubanga baliba nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira. Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe.” Abawandiisi abamu ne baddamu, nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, oyogedde bulungi.” Kubanga tebaayaŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate. Yesu n'abagamba nti, “ Bayinza batya okugamba nti Kristo ye mwana wa Dawudi?” Kubanga Dawudi yennyini ayogera mu kitabo kya Zabbuli nti, “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.’ ” “Oba nga Dawudi amuyita Mukama we, kale mwana we atya?” Awo abantu bonna bwe baali nga bawulira, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “ Mwekuumenga abawandiisi, abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'okuweebwa entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga; era abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.” Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba abagagga abaali bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika lya Yeekaalu. N'alaba nnamwandu omu omwavu ng'ateekamu ebitundu by'eppeesa bibiri. N'agamba nti, “ Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga abalala bonna: kubanga abo abalala bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe kwonna asuddemu byonna by'ali nabyo, ebibadde eby'okuyamba obulamu bwe bwonna.” Era abamu bwe baali boogera ku Yeekaalu, nga bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti, “Bino bye mulaba, ennaku zigenda kujja, lwe watalirekebwa jjinja eririsigala ku jjinja wano eritalisuulibwa.” Ne bamubuuza nga bagamba nti, “Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo?” N'agamba nti, “Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja nga beeyita erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga. Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanganga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangwago.” N'alyoka abagamba nti, “ Eggwanga lirirumba eggwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka; walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu. Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala mu maaso ga bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange. Kiriba mujulirwa gye muli. Kale mukiteeke mu mitima gyammwe, obutasookanga kulowooza bye muliddamu: kubanga nze ndibawa ebigambo mu kamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana. Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibatta. Nammwe mulikyayibwa abantu bonna olw'erinnya lyange. N'oluviiri olumu olw'oku mitwe gyammwe terulibula n'akatono. Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.” “Naye bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. Mu biro ebyo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n'abaliba wakati mu kyo bakifulumangamu; n'abaliba mu byalo tebakiyingirangamu. Kubanga ezo ze nnaku ez'okuwalana eggwanga, ebyawandiikibwa byonna biryoke bituukirire. Ziribasanga abaliba n'embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! kubanga waliba okulaba ennaku ennyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo. Balittibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonna; ne Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab'amawanga amalala okutuusa ebiro by'abamawanga lwe birituukirira. “Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo; abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa. Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene. Naye ebigambo ebyo bwe bitandikanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.” Yesu n'abagamba olugero; nti, “Mulabe omutiini n'emiti emirala gyonna; kale bwe gitojjera, mulaba ne mutegeera mwekka, nti kaakano obudde obw'ekyeya buli kumpi. Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe biribaawo. Eggulu n'ensi biriggwaawo; naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.” “Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika; kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna. Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.” Awo buli lunaku yayigirizanga mu Yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni. Abantu bonna ne bakeeranga enkya okugenda gy'ali mu Yeekaalu okumuwuliriza. Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa eyitibwa Okuyitako yali eneetera okutuuka. Bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamutta; kubanga baali batya abantu. Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12). N'agenda, n'ateesa ne bakabona abakulu, n'abaami ne ba sserikale nga bw'anaawaayo Yesu gyebali. Ne basanyuka, era ne balagaana okumuwa effeeza. N'akkiriza era n'anoonya ebbanga mw'anaamuweerayo gyebali awatali kibiina. Awo olunaku olw'Embaga eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa ne lutuuka, olugwanidde okusalirwako endiga ey'Okuyitako. Yesu n'atuma Peetero ne Yokaana ng'agamba nti, “Mugende mututegekere Embaga ejjuukirirwako Okuyitako tugirye.” Ne bamubuuza nti, “Oyagala tugitegekere wa?” N'abagamba nti, “Laba, bwe munaaba muyingidde mu kibuga munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi; mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira. Munaagamba nnyini nnyumba nti Omuyigiriza akugambye nti, Ekisenge ky'abagenyi kiruwa, mwe nnaaliira Okuyitako awamu n'abayigirizwa bange? Era oyo anaabalaga ennyumba ennene eya waggulu etimbiddwa: mutegekere omwo.” Awo ne bagenda, ne balaba nga bw'abagabye, ne bategeka Okuyitako. Awo ekiseera bwe kyatuuka, Yesu n'atuula ku mmere, okulya awamu n'abatume be. N'abagamba nti, “Nneegombye nnyo okuliira awamu nammwe Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa: kubanga mbagamba nti Sirigirya n'akatono, okutuusa lwerituukirira mu bwakabaka bwa Katonda.” N'addira ekikompe, ne yeebaza n'agamba nti, “ Mutoole kino mugabane mwekka na mwekka: kubanga mbagamba nti Okusooka kaakano sirinywa ku bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.” N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti, “ Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” Era n'ekikompe bwatyo bwe baamala okulya, ng'agamba nti, “ Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe. Naye, laba, oyo agenda okundyamu olukwe ali wamu nange ku mmeeza. Kubanga Omwana w'omuntu okugenda agenda, nga bwe kyalagirwa: naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe!” Ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti anaaba ani ku bo agenda okukola ekyo. Ne wabaawo n'empaka mu bo, nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu. Yesu n'abagamba nti, “Bakabaka b'ab'amawanga babafuga, n'abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obulungi. Naye mmwe si bwe mutyo; naye omukulu mu mmwe abeere ng'omuto; n'oyo akulembera, abe ng'aweereza. Kubanga omukulu yaani, atuula ku mmere, oba aweereza? Si oyo atuula ku mmere? Naye nze wakati mu mmwe nninga aweereza. Naye mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange; nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze, mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez'ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaisiraeri.” “Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eŋŋaano: naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo.” Peetero n'amugamba nti, “ Mukama wange, nneeteeseteese okugenda naawe ne mu kkomera ne mu kufa.” Yesu n'agamba nti, “ Nkubuulira ggwe, Peetero, olwaleero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu nti tommanyi.” N'abagamba nti, “Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga?” Ne bagamba nti, “Nedda.” N'abagamba nti, “ Naye kaakano, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba bw'atyo: era atalina kitala atunde olugoye lwe akigule. Kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa kigwanidde okutuukirizibwa ku nze nti Yabalirwa wamu n'abasobya: Kubanga ekiŋŋwanira kirina okutuukirira” Abayigirizwa ne bagamba nti, “Mukama waffe, laba, waliwo ebitala bibiri biibino.” N'abagamba nti, “ Binaamala.” Awo Yesu n'afuluma n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yali; n'abayigirizwa be nabo ne bamugoberera. Awo bwe yatuukayo, n'abagamba nti, “Musabe muleme okuyingira mu kukemebwa.” Ye n'abaawukanako ebbanga ng'awakasukibwa ejjinja; n'afukamira n'asaba, ng'agamba nti, “ Kitange, bw'oyagala, nziggyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe.” Malayika n'amulabikira ng'ava mu ggulu ng'amussamu amaanyi. N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba ennyo: entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonnya wansi. Bwe yagolokoka mu kusaba, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'ennaku, n'abagamba nti, “ Ekibeebasizza ki? Mugolokoke musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa.” Yesu yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda, omu ku abo ekkumi n'ababiri (12), ng'abakulembedde, n'asemberera Yesu okumunywegera. Naye Yesu n'amugamba nti, “ Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?” N'abo be yali nabo bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti, “ Mukama waffe, tuteme n'ebitala?” N'omu ku abo n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu kwe okwa ddyo. Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Koma ku ekyo kyokka.” N'akoma ku kutu kwe n'amuwonya. Yesu n'agamba bakabona abakulu, n'abaami b'omu Yeekaalu, n'abakadde, abajja okumukwata nti, “ Munjijiridde ng'omunyazi, nga mulina n'ebitala n'emiggo? Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu Yeekaalu, temwangololerako mukono gyammwe, naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza.” Ne bamukwata ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'agoberera ng'ava walako. Awo bwe baali nga bamaze okukuma omuliro mu luggya wakati, nga batudde wamu, Peetero n'atuula wakati mu bo. Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti, “ N'ono yabadde naye.” Naye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Omukazi, omuntu oyo simumanyi.” Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti, “ Naawe oli omu ku bo.” Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, si nze.” Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti, “ Mazima n'ono yabadde wamu naye, kubanga naye Mugaliraaya.” Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, simanyi ky'oyogera.” Amangwago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima. Awo Mukama waffe n'akyuka, n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, bwe yamugambye nti, “ Leero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga. Awo abasajja abaali bakutte Yesu ne bamuduulira nga bamukuba. Ne bamubikka mu maaso, ne bamubuuza, nga bagamba nti, “ Lagula: ani akukubye?” Ne bamwogerako n'ebirala bingi nga bamuvuma. Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, ne bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne batwala Yesu mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti, “Oba nga ggwe Kristo, tubuulire.” Naye n'abagamba nti, “ Ne bwe nnaababuulira, temujja kukkiriza n'akatono; ne bwe nnaababuuza, temujja kuddamu n'akatono. Naye okusooka kaakano Omwana w'omuntu agenda kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi ga Katonda.” Bonna ne bagamba nti, “ Kale ggwe oli Mwana wa Katonda?” Yesu n'abagamba nti, “ Nga bwe mwogedde nze nzuuyo.” Ne bagamba nti, “ Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye.” Ekibiina kyonna ne kisituka, ne kimutwala ewa Piraato. Ne batandika okumuloopa nga bagamba nti, “Ono twamulaba ng'akyamya abantu b'eggwanga lyaffe, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, era nga ye yennyini yeeyita Kristo, kabaka.” Piraato n'amubuuza ng'agamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu n'agamba nti, “ Kyekyo nga bwoyogedde.” Piraato n'agamba bakabona abakulu n'ebibiina nti “Siraba musango gwonna ku muntu ono.” Naye bo ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamaza abantu, ng'ayigiriza mu Buyudaaya bwonna, yasookera Ggaliraaya okutuuka ne wano.” Naye Piraato bwe yawulira ebyo, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugaliraaya. Bwe yategeera nga wa mu matwale ga Kerode, n'amuweereza ewa Kerode, kubanga naye yali mu Yerusaalemi mu nnaku ezo. Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo: kubanga okuva edda yayagalanga okumulaba kubanga yawulira ebigambo bye; n'asuubira okulaba ng'akola akabonero. N'abuuza Yesu ebibuuzo bingi, naye ye n'atamuddamu kigambo. Bakabona abakulu n'abawandiisi ne bayimirira, era ne banyweza nnyo bye bamuloopa. Awo Kerode n'abasserikale be ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka ne bamuzzaayo ewa Piraato. Kerode ne Piraato ne balyoka batabagana ku lunaku olwo; kubanga olubereberye baali bakyawaganye. Piraato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'abantu, n'abagamba nti, “ Mundeetedde omuntu ono, nti yakyamya abantu; era, laba, nze bwe mmukemererezza mu maaso gammwe, sirabye nsonga ku muntu ono mu ebyo byonna bye mumuloopye; era, ne Kerode bwatyo, kubanga amuzzizza gyetuli, era, laba, omuntu ono tewali kigambo ky'akoze ekisaanidde okumussa. Kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.” Era Piraato kyamugwaniranga okubateeranga omusibe omu ku Mbaga. Naye bonna wamu ne bakaayana, nga bagamba nti, “Twala ono, otuteere Balaba,” Balaba oyo ye muntu gwe bassa mu kkomera olw'obujeemu obwali mu kibuga, n'olw'obussi. Piraato n'ayogera nabo nate, ng'ayagala okuta Yesu; naye bo ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere.” Piraato n'abagamba omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki, ono akoze kibi ki? Sirabye ku ye nsonga emussa: kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.” Naye bo ne bamuzitoowerera n'amaloboozi amanene, nga beegayirira okumukomerera. Amaloboozi gaabwe ne gasinga okukola. Piraato n'asalawo ekigambo kye beegayiridde kikolebwe. N'ata oyo eyasuulibwa mu kkomera olw'obujeemu n'obussi gwe bamwegayiridde; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe baagadde. Awo abasserikale bwe baali nga batwala Yesu, ne bakwata Omukuleene Simooni, eyali ava mu kyalo, ne bamutikka omusalaba, okugwetikka ng'ava emabega wa Yesu. Ekibiina kinene ne kimugoberera eky'abantu n'eky'abakazi abagenda baamukaabira, era ne bamulirira. Naye Yesu n'abakyukira n'agamba nti, “Abawala ab'e Yerusaalemi, temukaabira nze, naye mwekaabire mwekka, n'abaana bammwe. Kubanga, laba, ennaku zijja, mwe baligambira nti Balina omukisa abagumba, n'embuto ezitazaala n'amabeere agatayonsa. Ne balyoka batandika okugamba ensozi nti Mutugweko; n'obusozi nti Mutuvuunikire. Kubanga bwe bakola bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?” Era yatwalibwa n'abalala babiri, abaakola obubi, okuttibwa awamu naye. Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomerera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ggwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. Awo Yesu n'agamba nti, “Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola.” Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu. Abantu ne bayimirira awo nga bamutunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala; yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we.” Abasserikale nabo ne bajja w'ali, ne bamuduulira, nga bamuwa omwenge omukaatuufu, nga bagamba nti, “Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wekka.” Ne wabaawo n'ebbaluwa waggulu we nti, “ONO YE KABAKA w'Abayudaaya.” Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa ku musalaba n'amuvuma ng'agamba nti, “Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe otulokole.” Naye ow'okubiri n'addamu n'amunenya, n'agamba nti, “N'okutya totya Katonda, kubanga ggwe oli ku kibonerezo kye kimu naye? Era ffe twalangibwa nsonga; kubanga ebisaanidde bye twakola bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo kyonna ekitasaana.” N'agamba nti, “Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu kitiibwa ky'obwakabaka bwo.” Yesu n'amugamba nti, “Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.” Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa mwenda, enjuba yali teyaka: n'eggigi ery'omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati. Awo Yesu n'ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti, “ Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu. Awo omwami omukulu w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo n'atendereza Katonda, ng'agamba nti, “ Mazima ono abadde muntu mutuukirivu.” N'ebibiina byonna ebyali bikuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba. Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo. Kale laba, omuntu erinnya lye Yusufu, eyali omukungu, omuntu omulungi era omutuukirivu, oyo teyassa kimu mu kuteesa kwabwe newakubadde mu kikolwa kyabwe, era yali alindirira obwakabaka bwa Katonda: oyo n'agenda ewa Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. N'aguwanula n'aguzinga mu lugoye olwa bafuta, n'aguteeka mu ntaana eyabajjibwa mu jjinja, omutateekebwanga muntu. Kale lwali lunaku lwa Kuteekateeka, essabbiiti nga eneetera okutandika. N'abakazi be yava nabo e Ggaliraaya, ne bagoberera Yusufu, ne balaba entaana, n'omulambo gwe we gwateekebwa. Ne baddayo ewaabwe, ne bategeka eby'akaloosa n'amafuta ag'omugavu. Ne ku lunaku olwa ssabbiiti ne bawummula ng'etteeka bwe liri. Awo ku lunaku olwolubereberye mu nnaku omusanvu, mu matulutulu enkya, abakazi ne bajja ku ntaana ne baleeta eby'akaloosa bye baategeka. Ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa okuva ku mulyango gw'entaana. Ne bayingiramu, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu. Awo olwatuuka bwe baali basamaaliridde olw'ekyo, laba, abantu babiri ne bayimirira we baali, nga bambadde engoye ezimasamasa; awo bwe baali battidde, nga bakutamye ng'amaaso gaabwe gatunudde wansi, ne babagamba nti, “ Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu?” Taliiwo wano, naye azuukidde: mujjukire bwe yayogera nammwe ng'akyali mu Ggaliraaya, ng'agamba nti, “ Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibi, n'okukomererwa, ne ku lunaku olwokusatu okuzuukira.” Awo ne bajjukira ebigambo bye, ne bava ku ntaana ne baddayo, ebyo byonna ne babibuulira bali ekkumi n'omu (11), n'abalala bonna. Baali Malyamu Magudaleene, ne Yowaana, ne Malyamu nnyina Yakobo: n'abakazi abalala abali awamu nabo ne babulira abatume ebigambo ebyo. Ebigambo ebyo ne bifaanana mu maaso g'abatume nga bya busirusiru; ne batakkiriza. Naye Peetero n'asituka n'adduka, n'agenda ku ntaana; n'akutama n'alingiza n'alabamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byokka; n'akomawo ewuwe, nga yeewuunya ebibaddewo. Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga (60). Baali banyumya bokka na bokka ebyo byonna ebibaddewo. Awo olwatuuka baali nga banyumya era nga beebuuzaganya, Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo. Naye amaaso gaabwe ne gaziyizibwa baleme okumutegeera. N'abagamba nti, “ Bigambo ki ebyo bye mwebuuzaganya nga mutambula?” Ne bayimirira nga bawootedde. Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti, “ Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino?” N'ababuuza nti, “ Bigambo ki ebyo?” Ne bamugamba nti, “ Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna: ne bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okumusalira omusango ogw'okumutta, ne bamukomerera. Naye ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo. Era abakazi abamu ab'ewaffe batuwuniikirizza, abaakedde okugenda ku ntaana; bwe bataasanzeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti balabye okwolesebwa kwa bamalayika abagambye nti mulamu. N'abamu ku abo abaabadde naffe bagenze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe bagambye, kyokka ye tebaamulabye.” Kale ye n'abagamba nti, “ Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima era abalwawo okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga; tekyagwanira Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo byonna, alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikwako. Ne basembera kumpi n'embuga gye baali bagenda: ye n'aba ng'abayisa okugenda mu maaso. Ne bamuwaliriza nga bagamba nti, “Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano.” N'ayingira okutuula nabo. Awo olwatuuka bwe yali atudde nabo ku mmere, n'atoola omugaati n'agwebaza, n'agumenyamu n'abawa. Amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; naye n'ababulako nga tebakyamulaba. Ne beebuuzaganya nti, “ Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa?” Ne basituka mu kiseera ekyo ne baddayo e Yerusaalemi, ne basanga bali ekkumi n'omu (11), n'abo be baali nabo, nga bakuŋŋaanye nga bagamba nti, “ Mazima Mukama waffe azuukidde era alabikidde Simooni.” Nabo ne babannyonnyola biri eby'omu kkubo, era ne bwe yategeerekese gyebali olw'okumenyamu omugaati. Awo baali nga bakyayogera ebyo, Yesu yennyini n'ayimirira wakati waabwe, n'abagamba nti, “ Emirembe gibe nammwe.” Naye ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu. N'abagamba nti, “ Ekibeeraliikiriza kiki? N'okubuusabuusa kujjira ki mu mitima gyammwe? Mulabe engalo zange n'ebigere byange, nga nze nzuuno mwene: munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba nze bwe ndi nabyo.” Bwe yamala okwogera ekyo, n'abalaga engalo ze n'ebigere. Awo bwe baali tebannaba kukkiriza olw'essanyu, nga beewuunya, n'abagamba nti, “ Mulina ekiriibwa wano?” Ne bamuwa ekitundu eky'ekyennyanja ekyokye. N'akitoola n'akiriira mu maaso gaabwe. N'abagamba nti, “ Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli.” N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa; n'abagamba nti, “ Bwe kityo bwe kyawandiikibwa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olwokusatu; era amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggyibwako ebibi mu linnya lye, okusookera ku Yerusaalemi. Mmwe bajulirwa b'ebyo. Era laba, mbaweereza mmwe okusuubiza kwa Kitange: naye mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava waggulu.” Awo Yesu n'abatwala ebweru n'abatuusa e Bessaniya: n'ayimusa emikono gye n'abawa omukisa. Awo olwatuuka ng'akyabawa omukisa, n'abaawukanako, n'atwalibwa mu ggulu. Nabo ne bamusinza, ne bakomawo e Yerusaalemi n'essanyu lingi: ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo, nga beebaza Katonda. Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda. Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaali kintu na kimu ekyakolebwa. Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu. Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera. Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana. Oyo yajja ng'omujulirwa ategeeze eby'omusana, bonna balyoke bakkirize ku bubwe. Oyo si ye musana, wabula omujulirwa ategeeza eby'omusana. Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi. Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera. Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza. Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye; abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda. Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gyetuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima. Yokaana n'amutegeeza ng'ayogerera waggulu nti, “Oyo gwe nnagamba nti ‘Ajja oluvannyuma lwange ansinga nze, kubanga ye yali wa lubereberye ku nze.’ ” Kubanga ku kujjula kwe fenna twaweebwa, ekisa ekyeyongera ku kisa. Kubanga amateeka gaaweebwa nga gayita mu Musa; ekisa n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo. Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, abeera mu kifuba kya Kitaffe oyo ye yategeeza bwali. Buno bwe bujulirwa bwa Yokaana bwe yategeeza Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti, “Ggwe ani?” N'ayatula, n'ateegaana; nnabategeeza nti, “Si nze Kristo.” Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?” N'agamba nti, “Si nze ye.” “Ggwe nnabbi oli?” N'addamu nti, “Nedda.” Awo ne bamugamba nti, “Ggwe ani? Tulyoke tuddemu abatutumye. Weeyita ani?” Yokaana n'abaddamu nti, “Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.” Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo. Ne bamubuuza, ne bamugamba nti, “Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa?” Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti, “Nze mbatiza na mazzi: wakati mu mmwe wayimiridde omuntu gwe mutamanyi, ajja oluvannyuma lwange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye.” Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga. Olunaku olwokubiri Yokaana n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti, “Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi! Ye wuuyo gwe nnayogerako nti, ‘Emabega wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.’ Nange saamumanya: naye nze najja nga mbatiza na mazzi, ye alyoke ayolesebwe eri Isiraeri.” Yokaana n'abategeeza ng'agamba nti, “Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye. Nange saamumanya; naye yantuma kubatiza na mazzi, ye yaŋŋamba nti, ‘Ggw'oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.’ Nange ne ndaba, era mbakakasa nti oyo ye Mwana wa Katonda.” Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'abamu ku bayigirizwa be babiri; n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti, “Laba, Omwana gw'endiga owa Katonda!” Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu. Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti, “Munoonya ki?” Ne bamugamba nti, “Labbi” (amakulu gaakyo nti Omuyigiriza), “osula wa?” N'abagamba nti, “Mujje, munaalabawo.” Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi (10). Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera. Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti, “Tulabye Kristo,” amakulu gaakyo nti Eyafukibwako amafuta. N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa,” (amakulu gaalyo nti Peetero, eritegeeza nti Olwazi). Olunaku olwaddako Yesu n'asalawo okugenda e Ggaliraaya, n'asanga Firipo, n'amugamba nti, “Ngoberera.” Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero. Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti, “Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.” Nassanayiri n'amugamba nti, “Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi?” Firipo n'amugamba nti, “Jjangu olabe.” Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti, “Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!” Nassanayiri n'amugamba nti, “Wantegeerera wa?” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba.” Nassanayiri n'amuddamu nti, “Labbi, ggwe Mwana wa Katonda; ggwe Kabaka wa Isiraeri.” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? Oliraba ebikulu okukira ebyo.” N'amugamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.” Olunaku olwokusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo. Yesu n'abayigirizwa be nabo baali bayitiddwa ku mbaga. Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti, “Tebalina nvinnyo.” Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, Onvunaana ki? Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka.” Nnyina n'agamba abaweereza nti, “Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola.” Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukuza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu. Yesu n'abagamba nti, “Mujjuze amasuwa amazzi.” Ne bagajjuza okutuusa ku migo. N'abagamba nti, “Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga.” Ne bamutwalira. Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole, n'amugamba nti, “Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi; naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano.” Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza. Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku ntonotono. Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemi. Mu Yeekaalu n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjibwa, n'abawaanyisa effeeza nga bali ku mirimu gyabwe. Naddira emigwa n'agikozesa nga embooko, n'abagoba bonna mu Yeekaalu, n'agobamu endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika n'emmeeza zaabwe. N'agamba abaali batunda enjiibwa nti, “Muggyeewo ebintu bino; muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya busubuzi.” Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti, “Obuggya bw'ennyumba yo bulindya.” Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti, “Kabonero ki k'otwolesa akakukozesa bino?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mumenye Yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu.” Awo Abayudaaya ne boogera nti, “Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka ana mu mukaaga (46), naawe oligizimbira ennaku ssatu?” Naye yayogera ku Yeekaalu ya mubiri gwe. Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera. Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe yakola. Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna, era yali teyeetaaga muntu yenna okumutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu. Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, omufuzi mu Bayudaaya. Omusajja oyo n'ajja eri Yesu ekiro, n'amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti Oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula nga Katonda ali naye.” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Nikoodemo n'amugamba nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina n'azaalibwa omulundi ogwokubiri?” Yesu n'addamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kwayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda; bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.” Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Ggwe Omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo? Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe. Bwe mbabuulidde eby'ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu? Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu. Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa: buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye.” “ Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye. Amukkiriza tegumusinga; atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda. Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa. Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.” Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu nsi y'e Buyudaaya; n'alwayo nabo, n'abatiza. Naye Yokaana yali ng'abatiriza mu Enoni kumpi n'e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi; ne bajjanga, ne babatizibwanga. Kubanga Yokaana yali nga tannateekebwa mu kkomera. Abayigirizwa ba Yokaana n'Omuyudaaya ne baba n'empaka, mu bigambo eby'okutukuza. Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti, “Labbi oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bagenda gy'ali.” Yokaana n'addamu n'agamba nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu. Mmwe bennyini muli bajulirwa bange nga nnayogera nti Si nze Kristo, naye nga nnatumibwa kumukulembera. Alina omugole ye awasa; naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza; kale essanyu lyange eryo lituukiridde. Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala.” Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow'omu nsi aba wa mu nsi, ayogera bya mu nsi, ava mu ggulu ye afuga byonna. Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe. Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima. Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda; kubanga Katonda amuwa Omwoyo we omujjuvu. Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe. Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye. Awo Mukama waffe Yesu bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti ayigiriza era abatiza bangi okusinga Yokaana, (naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula abayigirizwa be), n'ava mu Buyudaaya, n'addayo e Ggaliraaya. Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya. Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu. Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olw'olugendo, n'amala gatuula awo ku luzzi, obudde zaali nga ssaawa mukaaga. Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi, Yesu n'amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere. Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya nze omukazi Omusamaliya amazzi okunywa?” (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya). Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.” Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu; kale oggya wa amazzi ago amalamu? Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyanywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze?” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate, naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.” Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okujjanga wano okusena amazzi.” Yesu n'amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo wano.” Omukazi n'addamu n'amugamba nti, “Sirina baze.” Yesu n'amugamba nti, “Oyogedde bulungi nti Sirina baze; kubanga walina ba balo bataano, naye gw'olina kaakano si balo; ekyo ky'oyogedde mazima.” Omukazi n'amugamba nti, “Ssebo, ndaba nti oli nnabbi. Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.” Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi. Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima, kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga. Katonda gwe Mwoyo; n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.” Omukazi n'amugamba nti, “Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta), ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna.” Yesu n'amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.” Amangu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi, naye tewali muntu eyabuuza omukazi nti, “Onoonya ki?” Oba eyabuuza Yesu nti, “Kiki ekikwogeza naye?” Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abantu nti, “Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna; ayinza okuba nga ye Kristo?” Ne bava mu kibuga, ne bagenda Yesu gye yali. Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti, “Labbi, lya ku mmere.” Naye n'abagamba nti, “Nnina eky'okulya kye ndya kye mutamanyi.” Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti, “Waliwo omuntu amuleetedde eky'okulya?” Yesu n'abagamba nti, “Eky'okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe. Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze okutukula okukungulibwa. Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu. Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti, ‘Asiga mulala, n'akungula mulala.’ Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera; abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.” Ab'omu kibuga omwo Abasamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna. Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo; n'asulayo ennaku bbiri. Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye, ne bagamba omukazi nti, “Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.” Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya. Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti, “Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa.” Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga, kubanga nabo baagenda ku mbaga. Awo n'ajja nate e Kaana eky'e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu. Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa. Awo Yesu n'amugamba nti, “Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono.” Omukungu n'amugamba nti, “Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.” Yesu n'amugamba nti, “Genda; omwana wo mulamu.” Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda. Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti, “Omwana we mulamu.” Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti, “Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.” Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti, “Omwana wo mulamu;” ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna. Kano ke kabonero ak'okubiri Yesu ke yakola ng'akomyewo e Buyudaaya okuva e Ggaliraaya. Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka e Yerusaalemi. Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano. Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okubimba: kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okukkamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe yabanga nabwo.] Waaliwo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka asatu mu munaana (38). Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti, “Oyagala okuba omulamu?” Omulwadde n'amuddamu nti, “Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera, nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.” Yesu n'amugamba nti, “Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule.” Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti. Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti, “Leero ssabbiiti, kya muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.” Naye n'abaddamu nti, “Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule.” Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti, Weetikke ekitanda kyo otambule?” Naye eyawonyezebwa yali tamanyi Yesu, kubanga Yesu yali amaze okugenda, ate nga abantu abaali mu kifo kiri nga bangi. Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu Yeekaalu, n'amugamba nti, “Laba, oli mulamu; toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.” Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti, “Yesu ye yamponya.” Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti. Naye Yesu n'abaddamu nti, “Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.” Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda. Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza kukola kintu ku bubwe, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola; kubanga Kitaawe by'akola byonna, n'Omwana by'akola. Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga n'emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye. Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa. Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala emisango gyonna; bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma. Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu. Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu. Kuba nga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye; era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu. Temwewuunya ekyo; kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.” “Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala. Bwe nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima. Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw'ampaako bwa mazima. Mmwe mwatumira Yokaana ababaka naye n'akakasa amazima. Si lwa kuba njagala obujulirwa bw'omuntu, naye njogera ebyo mmwe mulokoke. Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala okumala ekiseera kitono nga musanyukira mu kitangaala kye. Naye obujulirwa bwe nnina bwe bukulu okusinga obwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu egyo gyennyini gye nkola, era gye gijulira nga Kitange ye yantuma. Era Kitange eyantuma oyo yajulira ebyange. Eddoboozi lye temuliwulirangako n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye. Era n'ekigambo kye tekibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza. Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange; era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu. Siweebwa bantu kitiibwa. Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu. Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe mulimusembeza. Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka? Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira. Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga oyo yampandiikako. Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?” Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'agenda emitala w'ennyanja ey'e Ggaliraaya era eyitibwa ey'e Tiberiya. Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde. Yesu n'alinnya ku lusozi n'atuula eyo n'abayigirizwa be. N'Okuyitako, embaga y'Abayudaaya, kwali kunaatera okutuuka. Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?” Yayogera atyo kumukema, ng'amanyi yekka ky'agenda okukola. Firipo n'amuddamu nti, “Emmere egulibwa dinaali ebibiri (200), teebabune, buli muntu okulyako akatono.” Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti, “Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n'ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi?” Yesu n'agamba nti, “Mutuuze abantu.” Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, baali ng'enkumi ttaano (5,000). Awo Yesu n'atoola emigaati ne yeebaza; n'agabira bali abaali abatudde; n'ebyennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baayagala. Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti “Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okusigala akantu.” Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa. Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti, “Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.” Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n'addayo nate ku lusozi yekka. Naye obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja; ne basaabala mu lyato, baali bawunguka ennyanja okugenda e Kaperunawumu. N'obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gyebali. Ennyanja n'esiikuuka, omuyaga mungi nga gukunta. Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'abiri mu ttaano (25), oba asatu (30), ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya. Naye n'abagamba nti, “Nze nzuuno, temutya.” Awo ne bakkiriza okumuyingiza mu lyato; amangu ago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda. Olunaku olwaddirira, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja, ne balaba nga waliyo eryato limu, era ne bamanya nga Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye nga abayigirizwa be bagenze bokka. Naye amaato amalala gaava e Tiberiya ne gagoba kumpi ne gye baaliira emigaati Mukama waffe bwe yamala okwebaza. Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu. Bwe baamusanga emitala w'ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, ozze ddi wano?” Yesu n'abaddamu n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta. Temukolereranga kya kulya ekiggwaawo, naye eky'okulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga Kitaffe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.” Awo ne bamugamba nti, “Tukole ki okukola emirimu gya Katonda?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.” Awo ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? Okola mulimu ki? Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu.” Awo Yesu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu. Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.” Awo ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo.” Yesu n'abagamba nti, “Nze mmere ey'obulamu; ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono.” Naye n'abagamba nti, “mundabye, era temukkirizza. Buli Kitange gw'ampa, alijja gye ndi; ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono. Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala. Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero. Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.” Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyiza kubanga yagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti, Nnava mu ggulu?” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Temwemulugunya mwekka na mwekka. Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi. Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange. Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo. Nze mmere ey'obulamu. Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa. Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa. Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi.” Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?” Awo Yesu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero. Kubanga omubiri gwange kye ky'okulya ddala, n'omusaayi gwange kye ky'okunywa ddala. Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye. Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange; bw'atyo andya ye aliba omulamu ku bwange. Eno ye mmere eyava mu ggulu, si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe.” Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng'ayigiriza mu Kaperunawumu. Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?” Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyiza kino, n'abagamba nti, “Kino kibeesittaza? Kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye? Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu. Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza.” Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali. N'agamba nti, “Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.” Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate. Awo Yesu n'agamba ekkumi n'ababiri (12) nti, “Era nammwe mwagala okugenda?” Simooni Peetero n'amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo. Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.” Yesu n'abaddamu nti, “Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri (12)? Naye omu ku mmwe ye Setaani.” Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe, newakubadde yali omu ku kkumi n'ababiri (12). Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'atambula mu Ggaliraaya; kubanga teyayagala kutambula mu Buyudaaya kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta. Naye embaga y'Abayudaaya ey'Ensiisira yali eneetera okutuuka. Awo baganda be ne bamugamba nti, “Va wano, ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe emirimu gyo gy'okola. Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama, bw'aba ng'ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi.” Kubanga ne baganda be tebaamukkiriza. Awo Yesu n'abagamba nti, “Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese. Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu gyayo mibi. Mmwe mwambuke ku mbaga: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.” Bwe yamala okubagamba ebyo n'asigala e Ggaliraaya. Naye baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si mu lwatu, wabula mu kyama. Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, nga beebuuza nti, “Ali ludda wa?” Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala nga bagamba nti, “Mulungi;” ate abalala nga bagamba nti, “Nedda, naye akyamya abantu.” Naye olw'okutya Abayudaaya tewaali yamwogerako mu lwatu. Awo mu makkati g'ekiseera eky'embaga Yesu n'ayambuka mu Yeekaalu, n'ayigiriza. Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti, “Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako?” Awo Yesu n'abaddamu n'agamba nti, “Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw'oli eyantuma. Omuntu bw'ayagala okukola oli by'ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange. Ayogera eby'amagezi ge, anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo aba wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye. Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okunzita?” Ekibiina ne baddamu nti, “Oliko dayimooni, ani asala amagezi okukutta?” Yesu n'addamu n'agamba nti, “Nnakola omulimu gumu, nammwe mwenna ne mwewuunya. Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja) ne ku ssabbiiti mukomola omuntu. Oba ng'omuntu akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okumenyebwa; lwaki munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti? Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga.” Awo abamu ku bantu ab'omu Yerusaalemi ne bagamba nti, “Gwe banoonya okutta si ye wuuno? Naye, laba, ayogera lwatu, so tebaliiko kye bamugamba. Abakulu bamanyidde ddala ng'ono ye Kristo? Naye ono tumanyi gy'ava; sso nga Kristo bw'alijja, tewali alimanya gy'ava.” Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu Yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti, “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe. Nze mummanyi; kubanga nnava gy'ali, era ye yantuma.” Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka. Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti, “Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?” Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata. Awo Yesu n'agamba nti, “Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy'ali eyantuma. Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.” Awo Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti, “Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani? Kigambo ki ekyo ky'agamba nti, Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.” Naye ku lunaku olw'enkomerero, era olusingira ddala obukulu ku mbaga, Yesu n'ayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti, “Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe. Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.” Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa. Awo ab'omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti, “Mazima, ono ye nnabbi oli.” Abalala ne bagamba nti, “Ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya? Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali?” Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe. Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono. Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti, “Ekibalobedde ki okumuleeta?” Abambowa ne baddamu nti, “Tewali muntu eyali ayogedde bw'atyo.” Awo Abafalisaayo ne babaddamu nti, “Era nammwe abakyamizza? Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo? Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa.” Nikoodemo omu ku bo, era edda eyagenda eri Yesu n'abagamba nti, “Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n'okutegeera ky'akoze?” Ne baddamu ne bamugamba nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya.” Buli muntu n'addayo eka. Naye Yesu n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni. N'akeera mu makya n'ajja nate mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy'ali; n'atuula, n'abayigiriza. Abawandiisi n'Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe bakutte ng'ayenda; ne bamussa wakati, ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza. Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo. Kale ggwe oyogera otya ku ye?” Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka. Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.” N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka. Nabo bwe baawulira ekigambo ekyo ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero; Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati. Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti, “Omukyala, bazze wa? Tewali asaze kukusinga?” Naye n'agamba nti, “Mpaawo muntu, Mukama wange.” Yesu n'agamba nti, “Nange sisala kukusinga, genda; okuva leero toyonoonanga lwa kubiri.” Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti, “Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu.” Awo Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Ggwe weetegeeza wekka; okutegeeza kwo si kwa mazima.” Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda. Mmwe musala omusango ng'omubiri bwe guli; nze sisalira muntu musango. Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma. Era naye ne mu mateeka gammwe kyawandiikibwa nti okutegeeza kw'abantu ababiri kwa mazima. Nze nneetegeeza nzekka, ne Kitange eyantuma ategeeza ebyange.” Awo ne bamugamba nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n'addamu nti, “Nze temummanyi, newakubadde Kitange. Singa mummanyi nze, ne Kitange mwandimumanye.” Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu Yeekaalu; so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka. Awo Yesu n'abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, nammwe mulinnoonya, mulifiira mu kibi kyammwe; nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo.” Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta, kubanga agamba nti, Nze gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo?” N'abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi; nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba mu nsi muno; nze siri wa mu nsi muno. Kyennava mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe. Kubanga bwe mutakkiriza nga nze wuuyo, mulifiira mu bibi byammwe.” Awo ne bamugamba nti, “Ggwe ani?” Yesu n'abagamba nti, “Nga bwe nnabagambanga okuva ku lubereberye. Nnina bingi eby'okuboogerako n'okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy'ali bye biibyo bye njogera eri ensi.” Tebaategeera ng'abagambye ku Kitaffe. Awo Yesu n'agamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuntu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo. N'oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga nzekka; kubanga nkola bulijjo by'asiima.” Bwe yayogera ebigambo ebyo, abantu bangi ne bamukkiriza. Awo Yesu n'agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna; oyogera otya ggwe nti, Mulifuuka ba ddembe?” Yesu n'abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Buli muntu yenna akola ebibi, ye muddu w'ekibi. Omuddu tabeerera mu nnyumba mirembe na mirembe: omwana abeerera emirembe n'emirembe. Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, muliba ba ddembe ddala. Mmanyi nti muli zzadde lya Ibulayimu: naye musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange tekyeyabya mu mmwe. Nze njogera bye nnalaba eri Kitange: kale nammwe mukola bye mwawulira eri kitammwe.” Ne baddamu ne bamugamba nti, “Ibulayimu ye kitaffe.” Yesu n'abagamba nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu. Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby'amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw'atyo. Mmwe mukola emirimu gya kitammwe.” Ne bamugamba nti, “Ffe tetuli baana beebolereze; tulina Kitaffe omu, ye Katonda.” Yesu n'abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde nze: kubanga nnava eri Katonda, ne njija, so sajja ku lwange nzekka, naye oyo ye yantuma. Kiki ekibalobedde okutegeera enjogera yange? Kubanga temuyinza kuwulira kigambo kyange. Mmwe muli bakitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w'obulimba. Naye kubanga njogera amazima, temunzikiriza. Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima kiki ekibalobedde okunzikiriza? Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda: mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda.” Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti, “Tetwogera bulungi ffe nti Ggwe oli Musamaliya, era oliko dayimooni?” Yesu n'addamu nti, “Siriiko dayimooni; naye nze nzisaamu ekitiibwa Kitange, nammwe temunzisaamu kitiibwa. Naye nze sinoonya kitiibwa kyange; w'ali anoonya era asala omusango.” Ddala ddala mbagamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange taliraba kufa emirembe n'emirembe Abayudaaya ne bamugamba nti, “Kaakano tutegedde ng'oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti, Omuntu bw'akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n'emirembe. Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Ne bannabbi baafa: weeyita ani?” Yesu n'addamu nti, “Bwe nneegulumiza nzekka, okugulumira kwange kuba kwa busa: angulumiza ye Kitange: mmwe gwe mwogerako nti ye Katonda wammwe: so temumutegeeranga, naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaaba mulimba nga mmwe, era nkwata ekigambo kye. Ibulayimu jjajjammwe yasanyuka okulaba olunaku lwange; n'alulaba n'asanyuka.” Awo Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaba kuweza myaka ataano (50), naye Ibulayimu wamulaba?” Yesu n'abagamba nti, “ Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, nze nga wendi.” Awo ne baddira amayinja okumukuba: naye Yesu ne yeekweka, n'afuluma mu Yeekaalu. Yesu bwe yali ng'ayitawo, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso?” Yesu n'addamu nti, “Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye. Ffe kitugwanira okukola emirimu gy'oyo eyantuma, obudde nga misana. Ekiro kijja omuntu mw'atayinziza kukolera. Bwe mba mu nsi, ndi musana gwa nsi.” Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso, n'amugamba nti, “Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu” (ekitegeeza nti Eyatumibwa). Awo n'agenda, n'anaaba, n'akomawo ng'alaba. Awo baliraanwa be n'abaamulabanga edda ng'atudde ng'asabiriza, ne bagamba nti, “Si ye wuuno eyatuulanga ng'asabiriza?” Abalala ne bagamba nti, “Ye wuuyo,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, naye afaanana naye.” Ye n'agamba nti, “Nze nzuuno.” Awo ne bamugamba nti, “Kale amaaso go gaazibuka gatya?” Ye n'addamu nti, “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti, Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula.” Ne bamugamba nti, “Ali ludda wa oyo?” N'agamba nti, “Simanyi.” Ne bamutwala eri Abafalisaayo oli edda eyali omuzibe w'amaaso. Naye lwali lwa ssabbiiti olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'amuzibula amaaso. Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N'abagamba nti, “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula.” Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti.” Naye abalala ne bagamba nti, “Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano?” Ne wabaawo okwawukana mu bo. Awo ne bamugamba nate omuzibe w'amaaso nti, “Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso?” Naye n'agamba nti, “Ye nnabbi.” Kale Abayudaaya tebakkiriza bigambo bye, nga yali muzibe w'amaaso n'azibula, okutuusa lwe baamala okuyita abazadde b'eyazibula ne bababuuza nga bagamba nti, “Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w'amaaso? kale kaakano alaba atya? ” Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti, “Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso: naye bw'alaba kaakano tetumanyi: so n'eyamuzibula amaaso ffe tetumanyi bw'ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka.” Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okukkaanya nti buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro. Abazadde be kyebaava boogera nti Musajja mukulu; mumubuuze ye. Awo ne bayita omulundi ogwokubiri omuntu oli eyali omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda: ffe tumanyi ng'omuntu oyo alina ebibi.” Ye n'addamu nti, “Oba ng'alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba.” Awo ne bamugamba nti, “Yakukola atya? yakuzibula atya amaaso go?” N'abaddamu nti, “Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira omulundi ogwokubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be?” Ne bamuvuma, ne bagamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we: naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa: naye omuntu oyo tetumumanyi gy'ava.” Omuntu n'addamu n'abagamba nti, “Kino kitalo! mmwe obutamanya gy'ava, omuntu eyasobola okunzibula amaaso! Tumanyi nga Katonda tawulira balina bibi; naye buli muntu atya Katonda, ng'akola ky'ayagala, oyo amuwulira. Okuva edda n'edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g'omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kigambo.” Ne baddamu ne bamugamba nti, “Ggwe wazaalibwa mu bibi byereere, naawe otuyigiriza ffe?” Ne bamusindikira ebweru. Yesu n'awulira nga bamusindikidde ebweru; n'amulaba n'agamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana wa Katonda?” Ye n'addamu, n'agamba nti, “Mukama wange, ye ani, mmukkirize?” Yesu n'amugamba nti, “Omulabye, era ayogera naawe ye wuuyo.” Ye n'agamba nti, “Mukama wange, nzikirizza.” N'amusinza. Yesu n'agamba nti, “Omusango gwe gwandeeta mu nsi muno, abatalaba balabe, n'abo abalaba babe bazibe b'amaaso.” Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti, “Naffe tuli bazibe b'amaaso?” Yesu n'abagamba nti, “Singa mubadde bazibe b'amaaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo.” Yesu n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi. Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga. Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: endiga ze aziyita amannya era azifulumya ebweru. Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi. Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala.” Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba. Awo Yesu n'abagamba nate nti, “Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga. Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira. Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro. Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi. Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga. Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya. Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo. Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera, nga Kitange bw'antegeera, nange bwe ntegeera Kitange; nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga. Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu. Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate. Tewali abunziggyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nnakiweebwa Kitange.” Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo. Abamu ku bo bangi ne bagamba nti, “Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki?” Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?” Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo; Yesu n'atambulira mu Yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani. Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti, “Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulirire ddala.” Yesu n'abaddamu nti, “Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze. Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera; nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange. Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange. Nze ne Kitange tuli omu.” Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba. Yesu n'abaddamu nti, “Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nnagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?” Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.” Yesu n'abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda? Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba), mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yatukuza, n'amutuma mu nsi, nti Ovvodde; kubanga ŋŋambye nti Ndi Mwana wa Katonda? Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.” Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe. N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo. Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti, “Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bwe yayogera ku ono byali bya mazima.” Bangi abaali eyo ne bamukkiriza. Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali; Malyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze; ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde. Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti, “Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde.” Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti, “Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo.” Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo. Awo bwe yawulira ng'alwadde, n'ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu. Ate n'alyoka agamba abayigirizwa nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.” Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?” Yesu n'addamu nti, “Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri (12)? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno. Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.” Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba nti, “Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.” Awo abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.” Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo. Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti, “Lazaalo afudde. Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy'ali.” Awo Tomasi ayitibwa Didumo n'agamba bayigirizwa banne nti, “Naffe tugende tufiire wamu naye.” Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana. Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano (15); Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwa mwannyinaabwe. Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju. Awo Maliza n'agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa.” Yesu n'amugamba nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira” Maliza n'amugamba nti, “Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero.” Yesu n'amugamba nti, “Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: na buli muntu mulamu akkiriza nze talifa emirembe n'emirembe. Okkiriza ekyo?” Maliza n'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange: nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.” Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” Naye bwe yawulira, n'agolokoka mangu, n'ajja gy'ali. Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng'akyali mu kifo Maliza kye yamusangamu. Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo. Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti, “Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.” Awo Yesu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n'asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira, n'agamba nti, “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, jjangu olabe.” Yesu n'akaaba amaziga. Awo Abayudaaya ne boogera nti, “Laba bw'abadde amwagala.” Naye abamu ku bo ne boogera nti, “Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa?” Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu. Yesu n'agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti, “Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.” Yesu n'amugamba nti, “Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti, “Kitange, nkwebaza kubanga wampulira. Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma.” Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti, “Lazaalo, fuluma ojje.” Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mbugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti, “Mumusumulule, mumuleke agende.” Awo bangi ku Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba Yesu ky'akoze, ne bamukkiriza. Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze. Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti, “Tukole tutya? Kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi. Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe.” Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi, so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula.” Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo; so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana. Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta. Awo Yesu n'atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n'avaayo n'agenda mu kifo ekiri okumpi n'eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n'abeera eyo n'abayigirizwa. Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi okwetukuza ng'Okuyitako tekunnatuuka. Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu Yeekaalu, nti, “Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?” Naye bakabona abakulu n'Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw'ategeera w'ali, ababuulire balyoke bamukwate. Awo bwe zaali nga zisigaddeyo ennaku omukaaga okutuuka ku Kuyitako, Yesu n'ajja e Bessaniya, eyali Lazaalo, Yesu gwe yazuukiza mu bafu. Awo ne bamufumbirayo emmere ey'ekyeggulo: ne Maliza n'aweereza; naye Lazaalo n'aba omu ku bo abaali batudde naye ku mmere. Awo Malyamu n'addira laatiri ey'amafuta ag'omugavu, ag'omuwendo omungi ennyo, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'attaanya ebigere bye n'enviiri ze: ennyumba n'ejjula akaloosa ak'amafuta. Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa be, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti, “Kiki ekirobedde okutunda amafuta gano okugaggyamu eddinaali bisatu (300), ne zigabirwa abaavu?” Kale yayogera bw'atyo, si lwa kulumirwa baavu; naye kubanga yali mubbi, ye yakwatanga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu. Awo Yesu n'agamba nti, “Mumuleke agaterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange. Kubanga abaavu be muli nabo ennaku zonna; naye nze temuli nange ennaku zonna.” Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya ne bategeera nti Yesu ali Bessaniya, ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu. Naye bakabona abakulu ne basala amagezi okutta ne Lazaalo; kubanga ku lulwe bangi ku Bayudaaya abaabavangako ne bakkiriza Yesu. Olunaku olwokubiri ekibiina kinene abaali bazze ku mbaga, bwe baawulira nga Yesu ajja e Yerusaalemi, ne batwala ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti, “Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye Kabaka wa Isiraeri.” Naye Yesu bwe yalaba ennyana y'endogoyi, n'agyebagala; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Totya, muwala wa Sayuuni: laba, Kabaka wo ajja, nga yeeberese omwana gw'endogoyi.” Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng'ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo. Awo ekibiina ekyali naye bwe yayita Lazaalo okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne babeera abajulirwa bebyo bye yakola. Era ekibiina kyekyava kigenda okumusisinkana, kubanga baawulira nti yakola akabonero ako. Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti, “Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze.” Naye mu abo abagenda ku mbaga okusinza mwalimu Abayonaani: awo abo ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky'omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala okulaba Yesu.” Firipo n'ajja n'abuulira Andereya; Andereya n'ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu. Yesu n'abaddamu, n'agamba nti, “Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe. Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi. Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabeeranga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.” “Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunzigya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino. Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti, “Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate.” Awo ekibiina ekyali kiyimiridewo, bwe kyaliwulira, ne kigamba nti, “Kubadde kubwatuka,” abalala ne bagamba nti, “Malayika ayogedde.” Yesu n'addamu n'agamba nti, “Eddoboozi lino terizze ku bwange, naye ku bwammwe. Kaakano ensi eno esalirwa omusango; kaakano omukulu w'ensi eno anaagoberwa ebweru. Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira abantu bonna gye ndi.” Naye yayogera atyo, ng'alaga okufa bwe kuli kw'agenda okufa. Awo ekibiina ne kimuddamu nti, “Ffe twawulira mu mateeka nti Kristo abeereraawo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti, Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Oyo Omwana w'omuntu ye ani?” Awo Yesu n'abagamba nti, “Esigaddeyo ebiro bitono ng'omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda. Bwe mukyalina omusana mukkirize omusana, mufuuke abaana b'omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n'agenda n'abeekweka. Naye newakubadde nga yakola obubonero bungi obwenkanidde awo mu maaso gaabwe, tebaamukkiriza: ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti, “Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe?” Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani? Kyebaava balema okuyinza okukkiriza, kubanga Isaaya yayogera nate nti Yabaziba amaaso, n'abakakanyaza omutima; Baleme okulaba n'amaaso n'okutegeera n'omutima, Bakyuke, Ndyoke mbawonye. Ebyo Isaaya yabyogera, kubanga yalaba ekitiibwa kya Yesu; era n'amwogerako. Naye bangi ne mu bakulu abaamukkiriza, naye olw'okutya Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro: kubanga baayagala ekitiibwa ky'abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda. Yesu n'ayogerera waggulu n'agamba nti, “Anzikiriza, takkiriza nze, wabula oli eyantuma. Era alaba nze ng'alabye oli eyantuma. Nze nzize kuba musana mu nsi, buli muntu anzikiriza aleme okutuulanga mu kizikiza. Naye awulira ebigambo byange, n'atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi. Agaana nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero. Kubanga saayogeranga nze ku bwange; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba era n'okwogera. Nange mmanyi ng'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe y'abiŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera.” Naye embaga ey'Okuyitako yali nga tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng'ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu nsi, yabaagala okutuusa enkomerero. Bwe baali balya emmere ey'ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe, Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda, n'ava ku mmere, ne yeeggyako omunagiro gwe, n'addira ekiremba, ne yeesiba ekimyu. N'alyoka addira amazzi nagateeka mu kibya, n'atandika okunaaza abayigirizwa ebigere n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. Awo n'ajja eri Simooni Peetero. Naye n'amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere?” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.” Peetero n'amugamba nti, “tonnaazenga bigere byange emirembe gyonna.” Yesu n'amuddamu nti, “Bwe ssiikunaaze nga tossa kimu nange.” Simooni Peetero n'amugamba nti, “Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n'emikono n'omutwe.” Yesu n'amugamba nti, “Anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu: nammwe muli balongoofu naye si mwenna.” Kubanga yamumanya anaamulyamu olukwe; kyeyava ayogera nti Mwenna temuli balongoofu. Awo bwe yamala okubanaaza ebigere, n'ayambala engoye ze, n'atuula nate, n'abagamba nti, “Mutegedde kye mbakoze? Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe: era mwogera bulungi; kubanga bwe ndi. Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere. Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo. Ddala ddala mbagamba nti Omuddu tasinga bukulu mukama we; so omutume tasinga bukulu oli eyamutuma. Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola. Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye. Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo. Ddala ddala mbagamba nti Asembeza buli gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze ng'asembezezza oli eyantuma.” Yesu bwe yamala okwogera bw'atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n'ayatula, n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.” Abayigirizwa ne batunulaganako, nga babuusabuusa gw'ayogeddeko bw'ali. Waaliwo omu ku bayigirizwa be eyali agalamidde mu kifuba kya Yesu ku mmere, Yesu gwe yayagalanga. Awo Simooni Peetero n'awenya oyo, n'amugamba nti, “Tubuulire gw'ayogeddeko bw'ali.” Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n'amugamba nti, “Mukama wange, ye ani?” Awo Yesu n'addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo.” Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti. Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n'alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti, “Ky'okola, kola mangu.” Naye ekigambo ekyo tewali muntu ku bo abaali batudde ku mmere eyakitegeera ekikimwogezza. Abamu baalowooza nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti gula bye twetaaga eby'oku mbaga; oba awe abaavu ekintu. Awo bwe yamala okuweebwa ekitole, amangu ago n'afuluma ebweru; obudde bwali kiro. Awo bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti, “Kaakano Omwana w'omuntu agulumizibwa, ne Katonda agulumizibwa mu ye; era Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, era amangu ago anaamugulumiza. Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano. Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.” Simooni Peetero n'amubuuza nti, “Mukama wange, ogenda wa?” Yesu n'addamu nti, “Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano; naye olingoberera gye bujja.” Peetero n'amugamba nti, “Mukama wange, kiki ekindobera okukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.” Yesu n'addamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw'onoonneegaana emirundi esatu. “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize. Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo. Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.” Tomasi n'amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tulimanyi tutya?” Yesu n'amugamba nti, “Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze. Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye.” Firipo n'amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala.” Yesu n'amugamba nti, “Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti tulage Kitaffe? Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye. Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka. Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange. Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana. Bwe munaasabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.” “Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe. Siribaleka bamulekwa; nkomawo gye muli. Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu. Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, era nga nammwe muli mu nze, ate nga nange ndi mu mmwe. Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.” Yuda (atali Isukalyoti) n'amugamba nti, “Mukama waffe, kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikira ffe, so si eri ensi?” Yesu n'amuddamu n'amugamba nti, “Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali. Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.” “Ebigambo ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba. Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga. Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu. Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize. Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo; naye ensi etegeerenga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.” “Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi. Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo, na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala. Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye. Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera ku muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola. Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya. Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga. Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange. Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe. Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire. Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe. Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanya mukama we by'akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe. Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga. Mbalagidde bino, mwagalanenga.” “Ensi bw'ebakyawanga mumanye nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjiggannya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe banaakikwatanga. Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'erinnya lyange, kubanga tebamumanyi eyantuma. Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe. Ankyawa nze akyawa ne Kitange. Singa saakolera mu bo mirimu egitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi; naye kaakano balabye ne bankyawa ne Kitange. Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere. Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange: era nammwe mutegeeza ebyange kubanga okuva ku lubereberye mwali nange.” “Ebyo mbibabuulidde muleme okusittazibwanga. Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng'aweerezza Katonda. N'ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze. Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.” “Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda wa? Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku. Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli. Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango; olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze; olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate; olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango. Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano. Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja. Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe. Byonna byonna Kitange by'ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n'abuulira mmwe. Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba.” Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti, “Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?” Kyebaava bagamba nti, “Kiki kino ky'agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky'agamba.” Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti, “Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba? Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku yammwe erifuuka ssanyu. Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi. Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu aliribaggyako. Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange. Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.” “ Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibabuulira ebya Kitange mu lwatu. Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange; kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, mukkirizza nga nnava eri Kitange. Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange.” Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero. Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda. Yesu n'abaddamu nti “ Kaakano mukkirizza? Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange. Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti, “Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize, nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo. Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo. Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza. Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo. Njolesezza erinnya lyo mu bantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo. Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe, kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babikkiriza, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula abo be wampa; kubanga babo; era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo. Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe. Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo; era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire. Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima, Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi. Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima. So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe; bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma. Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu; nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze. Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa. Kitange Omutuukirivu, ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma; era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.” Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n'afuluma n'abayigirizwa be ne basomoka akagga Kidulooni, eyali olusuku, n'agenda omwo ye n'abayigirizwa be. Era ne Yuda amulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo: kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi n'abayigirizwa be. Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajja mu lusuku ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu. Awo Yesu bwe yamanya ebigambo byonna ebinaamujjira, n'avaayo n'abagamba nti, “Munoonya ani?” Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunazaaleesi.” Yesu n'abagamba nti, “Nze nzuuno.” Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. Awo bwe yabagamba nti, “Nze nzuuno,” ne badda emabega ne bagwa wansi. Ate n'ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne bagamba nti, “Yesu Omunazaaleesi.” Yesu n'addamu nti, “Mbabuulidde nti nze nzuuno; kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende.” Ekigambo kino kyali kituukiriza kye yayogera nti, “Ku abo be wampa saabuzaako n'omu.” Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko. Awo Yesu n'agamba Peetero nti, “Zzaamu ekitala mu kiraato kyakyo; ekikompe Kitange ky'ampadde, siikinywe?” Awo ekitongole ky'abaserikale, n'omwami waabwe omukulu, n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba, ne basooka okumutwala eri Ana; kubanga yali mukoddomi wa Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka guli. Era Kayaafa oyo ye yawa Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira abantu. Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Awo omuyigirizwa oli yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, n'ayingira ne Yesu mu luggya lwa kabona asinga obukulu; naye Peetero n'asigala ng'ayimiridde ebweru ku luggi. Awo omuyigirizwa oyo omulala eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n'afuluma n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero. Awo omuwala oyo omuggazi w'oluggi n'agamba Peetero nti, “Naawe oli wa mu bayigirizwa ba muntu ono?” Peetero n'addamu nti, “Nedda siri.” Abaddu n'abaweereza baali bayimiridde awo nga bakumye omuliro gw'amanda; kubanga yali mpewo; ne boota omuliro: ne Peetero naye yali nabo ng'ayimiridde ng'ayota omuliro. Awo kabona asinga obukulu n'abuuza Yesu ku by'abayigirizwa be, n'eby'okuyigiriza kwe. Yesu n'amuddamu nti, “Nze nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu. Ombuuliza ki? Buuza abampuliranga, bye nnabagamba: laba, abo bamanyi nze bye nnayogera.” Bwe yayogera ebyo omu ku baweereza eyali amuyimiridde okumpi n'akuba Yesu oluyi n'agamba nti, “Oddamu otyo kabona asinga obukulu?” Yesu n'amuddamu nti, “Oba njogedde bubi, kinnumirize ekibi: naye oba kirungi, onkubira ki?” Awo Ana n'amuweereza nga musibe eri Kayaafa kabona asinga obukulu. Ne Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Awo ne bamugamba nti, “Naawe oli wa mu bayigirizwa be?” Ye ne yeegaana n'agamba nti, “Siri waamu.” Omu ku baddu bakabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti, “Nze saakulabye naye mu lusuku muli?” Peetero ne yeegaana nate; amangu ago enkoko n'ekookolima. Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako. Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti, “Musango ki gwe mulanze omuntu ono?” Ne baddamu ne bamugamba nti, “Omuntu ono singa abadde takoze bubi, tetwandimuleese gy'oli.” Awo Piraato n'abagamba nti, “Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali.” Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;” ekigambo kya Yesu kituukirizibwe, kye yayogera, ng'alaga okufa kw'agenda okufa bwe kuli. Awo Piraato n'ayingira nate mu kigango, n'ayita Yesu n'amugamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'addamu nti, “Kino okyogedde ku bubwo nantiki balala be bakubuulidde ebigambo byange?” Piraato n'addamu nti, “Nze ndi Muyudaaya? Ab'eggwanga lyammwe ne bakabona abakulu be bakundeetedde: okoze ki?” Yesu n'addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.” Awo Piraato n'amugamba nti, “Kale ggwe kabaka?” Yesu n'addamu nti, “Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange.” Piraato n'amugamba nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti, “Siraba musango ku ye. Naye mulina empisa, nze okubateeranga omu ku Kuyitako: kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?” Awo ne bakaayana, ne bagamba nti, “Si ono, wabula Balaba.” N'oyo Balaba yali munyazi. Awo Piraato n'alyoka atwala Yesu n'amukuba emiggo. Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bagimutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu; ne bajja w'ali ne bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamukuba empi. Piraato n'afuluma nate ebweru, n'abagamba nti, “Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.” Awo Yesu n'afuluma, ng'atikkiddwa engule ey'amaggwa, era ng'ayambadde n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti, “Laba omuntu oyo!” Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Komerera, komerera.” Piraato n'abagamba nti, “Mumutwale mmwe mumukomerere, kubanga nze siraba musango ku ye.” Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.” Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya; n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti, “Oli wa wa?” Naye Yesu n'atamuddamu. Awo Piraato n'amugamba nti, “Toyogera nange? Tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera?” Yesu n'amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.” Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.” Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa. Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti, “Laba Kabaka wammwe!” Awo bo ne boogerera waggulu nti, “Muggyeewo, muggyeewo mukomerere.” Piraato n'abagamba nti, “Nnaakomerera Kabaka wammwe?” Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka wabula Kayisaali.” Awo Piraato n'alyoka abawa Yesu okumukomerera. Awo ne batwala Yesu: n'afuluma, nga yeetisse yekka omusaalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa. Ne bamukomererera ku musaalaba mu kifo ekyo, era ne bakomerera n'abalala babiri wamu naye, eruuyi n'eruuyi, nga Yesu ali wakati. Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti, “YESU Omunazaaleesi KABAKA w'Abayudaaya.” Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi. Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya.” Piraato n'addamu nti, “Kye mpandiise kye mpandiise.” Awo basserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale muteeko; n'ekkanzu ye: n'ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu. Ne bagamba bokka na bokka nti, “Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo,” ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti, “Bagabana ebyambalo byange, Era bakubira akalulu eky'okwambala kyange.” Awo basserikale ne bakola ebyo. Naye awo awali omusaalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene. Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti, “Omukyala, laba, omwana wo!” Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti, “Laba nnyoko.” Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'atwala nnyina eka ewuwe. Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, olw'okwagala okutuukiriza ebyawandiikibwa, n'agamba nti, “Nnina ennyonta.” Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe. Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti, “Kiwedde,” n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe. Awo Abayudaaya, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, emirambo gireme okubeera ku musaalaba ku lunaku lwa Ssabbiiti (kubanga olunaku lwa ssabbiiti eyo lwali lukulu) ne basaba Piraato okubamenya amagulu gaabwe, balyoke baggibweko. Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye: naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu: naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi. Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize. Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti, “Talimenyebwa ggumba.” Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba gwe baafumita.” Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggya omulambo gwa Yesu ku musaalaba: awo Piraato n'akkiriza. Yusufu n'ajja, n'aggyako omulambo gwa Yesu. Ne Nikoodemo n'ajja (eyasooka okujja gy'ali ekiro), ng'aleese ebitabule eby'envumbo ne akaloosi, obuzito bwabyo laateri nga kikumi (100). Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, ng'empisa y'Abayudaaya ey'okuziika bwe yali. Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu. Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw'Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu. Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n'ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n'alaba ng'ejjinja liggiddwa ku ntaana. Awo n'adduka n'agenda eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti, “Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde.” Awo Peetero n'afuluma, n'omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana. Ne badduka bombi, naye omuyigirizwa oyo omulala n'ayisa Peetero, n'asooka okutuuka ku ntaana: n'akutama n'alingizaamu, n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo; naye n'atayingira. Awo ne Simooni Peetero n'ajja ng'amugoberera, n'ayingira mu ntaana; n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo, n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye z'ekitaani, naye nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali. Awo n'omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n'ayingira, n'alaba n'akkiriza. Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti, “kimugwanira okuzuukira mu bafu.” Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka. Naye Malyamu yali ayimiridde ebweru awaali entaana ng'akaaba: awo bwe yali ng'akaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana; n'alaba bamalayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe n'omulala emirannamiro w'ekifo, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. Abo ne bamugamba nti, “Omukyala, okaabira ki?” N'abagamba nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde.” Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'akyuka emabega, n'alaba Yesu ng'ayimiridde, n'atamanya nga ye Yesu. Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti, “Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo.” Yesu n'amugamba nti, “Malyamu.” N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni;” amakulu gaakyo Muyigiriza. Yesu n'amugamba nti, “Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.” Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti, “Ndabye Mukama waffe;” era n'abategeeza Mukama by'amugambye. Awo ku lunaku luli akawungeezi ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo mu kifo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe. Awo Yesu n'abagamba nate nti, “Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe.” Bwe yamala okwogera ekyo, n'abassiza omukka, n'abagamba nti, “Mutoole Omwoyo Omutukuvu: ebibi byabo bonna bye munaasonyiwanga, binaabasonyiyibwanga; ne by'abo be munaasibiranga, nga bibasibiriddwa ddala.” Naye Tomasi omu ku kkumi n'ababiri (12), eyayitibwanga Didumo, teyali nabo Yesu bwe yajja. Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti, “Tulabye Mukama waffe.” Naye n'abagamba nti, “Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono.” Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” Awo n'agamba Tomasi nti, “Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza naye akkiriza.” Tomasi n'addamu n'amugamba nti, “Ggwe Mukama wange, era Katonda wange.” Yesu n'amugamba nti, “Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.” Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa be, obutawandiikiddwa mu kitabo kino; naye buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n'obulamu mu linnya lye. Oluvannyuma lw'ebyo Yesu ne yeeraga nate mu bayigirizwa be ku nnyanja ey'e Tiberiya; yabeeraga bw'ati: Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow'e Kaana eky'e Ggaliraaya, n'abaana ba Zebbedaayo, n'abayigirizwa ba Yesu abalala babiri bonna baali wamu. Simooni Peetero n'abagamba nti, “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu. Naye bwali bukya Yesu n'ayimirira ku ttale: naye abayigirizwa ne batamanya nga ye Yesu. Awo Yesu n'abagamba nti, “Abaana, mulina eky'okuliira?” Ne bamuddamu nti, “Tetulina.” N'abagamba nti, “Musuule obutimba ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kubuwalula olw'ebyennyanja ebingi. Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetero nti, “ Ye Mukama waffe.” Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja. Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri 200) nga bawalula obutimba obulimu ebyennyanja. Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati. Yesu n'abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.” Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira obutimba ku ttale, nga bujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu (153) naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, obutimba tebwakutuka. Yesu n'abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti, “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama waffe. Yesu n'ajja, n'addira omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo. Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng'amaze okuzuukira mu bafu. Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano?” N'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti, “Liisanga abaana b'endiga bange.” N'amugamba nate omulundi ogwokubiri nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” N'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti, “Lundanga endiga zange.” N'amugamba omulundi ogwokusatu nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” N'amugamba nti, “Mukama wange ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti, “Liisanga endiga zange. Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n'ogenda gy'oyagala yonna: naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy'otoyagala.” Yayogera bw'atyo, ng'alaga okufa kw'alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'amugamba nti, “Ngoberera.” Peetero bwe yakyuka, n'alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng'agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey'ekyeggulo, n'agamba nti, “Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?” Awo Peetero bwe yalaba oyo n'agamba Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba ki?” Yesu n'amugamba nti, “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? Ggwe goberera nze.” Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b'oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti, “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?” Oyo ye muyigirizwa eyategeeza bino, n'awandiika bino; naffe tumanyi ng'okutegeeza kwe kwa mazima. Nate waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa. Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, n'awandiika ku ebyo byonna Yesu bye yasooka okukola n'okuyigiriza, okutuuka ku lunaku luli lwe yatwalibwa mu ggulu, ng'amaze okuwa ebiragiro abatume be, be yalonda ku bw'Omwoyo Omutukuvu. Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'abalabikira mu bbanga ery'ennaku ana (40), ng'ayogera nabo eby'obwakabaka bwa Katonda. Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira okuva gy'ali: “ kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi.” Awo bwe baakuŋŋaana ne bamubuuza nga bagamba nti, “ Mukama waffe, mu biro bino mw'onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri?” N'abagamba nti, “ Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye. Naye mulifuna amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.” Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunula n'asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe. Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw'agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula; abaayogera nti, “ Abantu b'e Ggaliraaya kiki ekibayimiriza nga mutunuula mu ggulu? Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.” Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng'olugendo olw'oku ssabbiiti. Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu, we baakuŋŋaaniranga, baali: Peetero, Yokaana, Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, Simooni omuzerote, ne Yuda omwana wa Yakobo. Abo bonna baali nga banyiikira n'omwoyo gumu mu kusaba, wamu n'abakazi ne Malyamu nnyina Yesu, ne baganda be. Mu nnaku ezo Peetero n'ayimirira wakati mu b'oluganda abaali bakuŋŋaanye ng'abantu kikumi mu abiri (120), n'agamba nti, “Ab'oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda ng'ayita mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu; kubanga yabalirwa wamu naffe, n'aweebwa omugabo gw'okuweereza kuno. Oyo n'agula ennimiro n'empeera ey'obubi bwe; n'agwa nga yeevuunise, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika. Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okuyitibwa n'eyitibwa Akerudama, amakulu nti, Ennimiro ey'omusaayi. Kubanga kyawandiikibwa mu kitabo kya Zabbuli nti,” “ ‘Ekibanja kye kizike, So kireme okubeerangamu omuntu: era nti Obukulu bwe buweebwe omulala.’” “N'olw'ekyo omu ku bantu abaayitanga naffe mu kiseera kyonna Mukama waffe Yesu mweyayingiranga era n'avanga gyetuli, okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe.” Ne balonda babiri, Yusufu ayitibwa Balusaba, n'atuumibwa erinnya Yusito, ne Matiya. Ne basaba, ne bagamba nti, “Mukama waffe, ggwe amanyi emitima gy'abantu bonna, lagako omu gw'olonze ku bano bombi, aweebwe ekifo ky'okuweereza okwo n'obutume, Yuda bwe yasuula n'agenda mu kifo kye ye.” Ne babakubira akalulu; akalulu ne kagwa ku Matiya, n'abalirwa wamu n'abatume ekkumi n'omu (11). Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka, bonna baali wamu mu kifo kimu. Amangwago okuwuuma ne kuva mu ggulu ng'empewo ewuuma n'amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde. Ne kulabika ku bo ennimi ng'ez'omuliro nga zeeyawuddemu: buli lulimi ne lutuula ku muntu. Bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne batandika okwogera ennimi endala, nga Omwoyo bwe yabawa okuzoogera. Awo waaliwo Abayudaaya abaali babeera mu Yerusaalemi, abantu abatya Katonda, abaava mu buli ggwanga ly'abantu wansi w'eggulu. Okuwuuma okwo bwe kwabaawo, ekibiina ne kikuŋŋaana ne kisamaalirira, kubanga buli muntu yawulira nga boogera mu lulimi lw'ewaabwe. Ne bawuniikirira bonna, ne beewuunya, nga bagamba nti, “Laba, bano bonna aboogera si Bagaliraaya? Era kiki ffe buli muntu okuwulira olulimi lw'ewaffe gye twazaalibwa? Abapaazi n'Abameedi, n'Abeeramiti, n'abali mu Mesopotamiya, mu Buyudaaya ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, mu Fulugiya ne mu Panfuliya, mu Misiri ne mu nsi ez'e Libiya eziriraanye Kuleene, n'Abaruumi abagenyi, Abayudaaya n'abakyufu, Abakuleete n'Abawalabu, tuwulira bano nga boogera mu nnimi zaffe eby'ekitalo ebya Katonda.” Bonna ne beewuunya ne babuusabuusa ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?” Naye abalala ne babasekerera ne bagamba nti, “ Batamidde omwenge omusu.” Naye Peetero bwe yayimirira ne bali ekkumi n'omu (11), n'ayogerera waggulu n'abagamba nti, “ Abasajja Abayudaaya n'abatuula mu Yerusaalemi mwenna, mutegeere kino era muwulirize ebigambo byange. Abantu bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza; kubanga ye ssaawa ey'okusatu ey'emisana. Naye bino bye byayogerwa nnabbi Yoweeri nti,” “ ‘Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Katonda, Ndifuka Omwoyo gwange ku balina omubiri bonna: Batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi, N'abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa, N'abakadde bammwe baliroota ebirooto: Weewaawo, ne ku baddu bange n'abazaana bange mu nnaku ziri Ndibafukira Omwoyo gwange, balyogera obunnabbi. Ndireeta eby'ekitalo mu ggulu waggulu N'obubonero mu nsi wansi, Omusaayi n'omuliro n'okunyooka kw'omukka. Enjuba erifuuka ekizikiza, N'omwezi okuba omusaayi, Olunaku lwa Mukama Olukulu olulitenderezebwa nga terunnaba kujja. Olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka.’” “Abasajja Abaisiraeri, muwulire ebigambo bino. Yesu Omunazaaleesi, omuntu eyabalagibwa Katonda mu bigambo eby'amaanyi n'eby'amagero n'obubonero, Katonda bye yamukozezanga wakati mu mmwe, nga mmwe bwe mumanyi; oyo bwe yaweebwayo nga Katonda bwe yasooka okuteesa n'okumanya, mwamutwala ne mumukomerera n'emikono gy'abantu ababi, ne mu mutta. Naye oyo Katonda yamuzuukiza, bwe yasumulula okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinza kumunyweza. Kubanga Dawudi amwogerako nti,” “ ‘Nnalaba Mukama ennaku zonna mu maaso gange, Kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo, nneme okusagaasagana. Omutima gwange kyegwava gwesiima, olulimi lwange ne lusanyuka; Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi: Kubanga tolireka bulamu bwange mu Magombe, So toliwaayo Mutukuvu wo kuvunda. Wanjigiriza amakubo g'obulamu; Olinjijuza essanyu n'amaaso go.’” “Abasajja ab'oluganda, nnyinza okwogera n'obuvumu mu maaso gammwe ebya jjajjaffe omukulu Dawudi nti yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waffe ne kaakano. Kale, nga bwe yali nnabbi, bwe yamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bazzukulu ab'omu ntumbwe ze alituuzaako omuntu ku ntebe ye; bwe yalaba olubereberye, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavunda. Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, ffe fenna tuli bajulirwa. Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubiza kw'Omwoyo Omutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano era kye muwulidde. Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye yayogera yennyini nti,” “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe nditeeka abalabe bo okuba entebe y'ebigere byo. ’ ” “Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.” Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti, “Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya?” Peetero n'abagamba nti, “ Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggyibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu. Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kw'abaana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.” Era n'abategeeza mu bigambo ebirala bingi n'ababuulirira ng'agamba nti, “ Mulokolebwe okuva mu mirembe gino egyakyama.” Awo abakkiriza ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwako ku lunaku olwo abantu ng'enkumi ssatu (3,000). Awo abakkiriza ne baba nga banyiikiriranga okuyigirizibwa kw'abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba. Buli muntu n'atya, eby'amagero bingi n'obubonero ne bikolebwanga abatume. Bonna abakkiriza baali wamu, ne baba nga bassakimu mu byonna, eby'obugagga byabwe n'ebintu bye baali nabyo ne babitunda ne bagabiranga bonna nga buli muntu bwe yali nga yeetaaga. Nabo nga banyiikiranga bulijjo n'omwoyo gumu okukuŋŋaana mu Yeekaalu, ne bamenyanga emigaati mu nnyumba zaabwe, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa, nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonna. Mukama n'abongerangako bulijjo abaalokokanga. Awo Peetero ne Yokaana ne bagenda mu Yeekaalu mu ssaawa ey'okusabiramu, essaawa ey'omwenda. Waaliwo omuntu omulema okuva mu lubuto lwa nnyina eyasitulibwanga, gwe baateekanga bulijjo ku luggi lwa Yeekaalu olwayitibwanga Olulungi, okusabanga effeeza abaayingiranga mu Yeekaalu. Oyo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu Yeekaalu n'asaba okuweebwa effeeza. Peetero awamu ne Yokaana ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n'agamba nti, “Tutunuulire.” N'abatunuulira, ng'alowooza nti banaamuwa ekintu. Naye Peetero n'agamba nti, “ Effeeza ne zaabu sibirina; naye kye nnina kye nkuwa: mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, tambula.” N'amukwata ku mukono ogwa ddyo n'amuyimusa. Amangwago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi, n'agolokoka mangu n'ayimirira n'atambula, n'ayingira nabo mu Yeekaalu ng'atambula ng'abuuka ng'atendereza Katonda. Abantu bonna ne bamulaba ng'atambula ng'atendereza Katonda, ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku luggi Olulungi olwa Yeekaalu okusabirizanga effeeza, ne bawuniikirira nnyo n'okwewuunya olw'ekyo ekimukoleddwa. Bwe yali ng'akyekutte ku Peetero ne Yokaana, ekibiina kyonna ne kijja gye baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya nnyo. Awo Peetero bwe yabalaba n'abagamba nti, “ Abasajja Abaisiraeri, Lwaki mwewuunya olwa kino? Mutwekaliririza ki amaaso? Mulowooza nti amaanyi gaffe ffe oba kutya kwaffe Katonda bye bimutambuzizza oyo? Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato, bwe yamalirira okumuta. Naye mmwe ne mwegaana Omutukuvu era Omutuukirivu, ne mwagala okuweebwa omussi, ne mutta Omukulu w'obulamu; oyo Katonda yamuzuukiza mu bafu: ffe bajulirwa baakyo. Era olw'okukkiriza erinnya lye; oyo gwe mulaba gwe mumanyi erinnya lye limuwadde amaanyi, n'okukkiriza okuli mu oyo kumuwadde obulamu buno obutuukiridde mu maaso gammwe mwenna. Kale kaakano, ab'oluganda, mmanyi nga mwakolera mu butamanya era nga n'abafuzi bammwe. Naye Katonda bye yabuulira edda mu kamwa ka bannabbi bonna nga Kristo we alibonyaabonyezebwa, yabituukiriza bw'atyo. Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby'okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke; naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye. Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by'alibagamba. Olulituuka buli mwoyo ogutawulira nnabbi oli gulizikirizibwa mu ggwanga.’ Weewaawo ne bannabbi bonna n'abo okuva ku Samwiri n'abo abaamuddirira, bonna abaayogeranga, baabuuliranga eby'ennaku zino. Mmwe muli baana ba bannabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe, ng'agamba Ibulayimu nti, ‘Ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi mwe biriweerwa omukisa.’ Okusooka gye muli Katonda, bwe yamala okuzuukiza omuweereza we n'amutuma gye muli abawe omukisa, ng'akyusa buli muntu mu bibi byammwe.” Awo Peetero ne Yokaana bwe baali nga boogera n'ekibiina, bakabona n'omukulu wa Yeekaalu n'Abasaddukaayo ne bajja gye baali, nga bansunguwadde nnyo kubanga baayigiriza abantu era baabuulira mu Yesu okuzuukira mu bafu. Ne babakwata ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera: kubanga bwali buwungedde. Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza ekigambo ne bakkiriza, omuwendo gw'abasajja ne baba ng'enkumi ttaano (5,000). Awo enkeera, abakulu n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi, ne Ana kabona asinga obukulu, ne Kayaafa ne Yokaana ne Alegezanda, ne bonna ab'ekika kya kabona asinga obukulu: ne babateeka wakati, ne bababuuza nti, “Maanyi ki oba linnya ki mmwe musinzidde okukola kino?” Awo Peetero nga ajjudde Omwoyo Omutukuvu, n'abagamba nti, “ Abakulu b'abantu n'abakadde, bwe tuba tubuuzibwa leero olw'ekyo ekirungi ekikoleddwa kw'ono eyagongobala, ekimuwonyezza; kisaanye kitegeerekeke eri mwenna n'eri abantu bonna mu Isiraeri nti, mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomerera mmwe, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw'oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe. Oyo lye jjinja eryanyoomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery'oku nsonda. So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.” Awo bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n'okutegeera ne bategeera nga si bayigirize, bantu ba bulijjo, ne beewuunya, ne bategeera nga baali wamu ne Yesu. Era bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo, nga tebaalina kya kuddamu. Naye ne babagamba okugira nga bava mu lukiiko, bamale bo bokka okusalawo eky'okubakola. Ne beebuuza nti, “ Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga bakoze akabonero akayatiikiridde, ekigambo ekyo kimanyiddwa abantu bonna abatuula mu Yerusaalemi, so tetuyinza kukyegaana. Naye kireme okweyongeranga okubuna mu bantu, tubakange balemenga okwogera mu linnya eryo n'omuntu yenna yenna.” Ne babayita ne babalagira balemenga okwogera n'akatono newakubadde okuyigirizanga mu linnya lya Yesu. Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu ne babagamba nti, “Oba nga kirungi mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda, mwogere; kubanga ffe tetuyinza kulema kwogeranga bye twalaba bye twawulira.” Nabo, oluvannyuma lw'okwongera okubakanga, baabata, nga tebalaba kye banaabalanga okubabonereza, olw'ekibiina; kubanga bonna baali batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleddwa. Kubanga omuntu eyakolerwa akabonero kano ak'okuwonyezebwa yali asusizza emyaka ana egy'obukulu. Bwe baateebwa ne bagenda mu kibiina kyabwe, ne bategeeza byonna bye bagambiddwa bakabona abakulu n'abakadde. Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti, “Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebirimu byonna, ggwe eyayogerera ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi omuweereza wo nti,” “ ‘Ab'amawanga kiki ekibeesazizza akajegere, N'ebika birowoozezza ebitaliimu? Bakabaka b'ensi baasimba ennyiriri, N'abakulu baakuŋŋaanira wamu Ku Mukama ne ku Kristo we. ’ ” “Kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku muweereza wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri, bakole byonna omukono gwo n'okuteesa kwo bye byalagira edda okubaawo. Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogeranga ekigambo kyo, bw'ogolola omukono gwo owonye, n'obubonero n'amagero bikolebwenga mu linnya ly'omuweereza wo omutukuvu Yesu.” Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu. N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu kyalina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu. N'amaanyi mangi abatume ne boogeranga okutegeeza kwabwe okw'okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. N'ekisa kingi ne kibeeranga ku bo bonna. Kubanga tewaali mu bo eyeetaaganga; kubanga bonna abaalina ensuku oba ennyumba baazitundanga ne baleeta omuwendo gwazo ezaatundibwanga, ne baguteeka ku bigere by'abatume: ne bagabiranga buli muntu nga bwe yeetaaganga. Ne Yusufu abatume gwe baayita Balunabba, amakulu gaalyo nti, azzamu abalala amaanyi, Omuleevi, eyazaalirwa e Kupulo, yalina ennimiro, n'agitunda n'aleeta ensimbi ezaavaamu naazileeta eri abatume. Naye omusajja erinnya lye Ananiya ne Safira mukazi we n'atunda ebibye, ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng'amanyi, n'aleetako kitundu butundu n'akiteeka ku bigere by'abatume. Naye Peetero n'agamba Ananiya nti, “ Lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, okulimba Omwoyo Omutukuvu, ne weeterekerako ku muwendo gw'ennimiro? Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki oteeseezza mu mutima gwo okukola bw'otyo? Tolimbye bantu, wabula Katonda.” Ananiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agwa n'afiirawo. Entiisa nnyingi n'ekwata bonna abaakiwulira. Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika. Awo bwe waali wayiseewo essaawa ssatu, mukazi we naye n'ayingira nga tamanyi bwe bibadde. Peetero n'amubuuza nti, “Mbuulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe gutyo?” N'addamu nti, “Weewaawo, bwe gutyo.” Naye Peetero n'amugamba nti, “ Kiki ekibekobaanyiza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banaakutwala naawe.” Amangwago n'agwa ku bigere bya Peetero n'afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. Entiisa nnene n'ekwata ekkanisa yonna ne bonna abaawulira ebyo. Obubonero n'eby'amagero bingi ne bikolebwanga abatume. Bonna baali wamu mu kisasi kya Sulemaani. So ne wataba n'omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, naye abantu ne babagulumizanga; abakkiriza bangi abasajja n'abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe. Abantu n'okuleeta ne baleetanga abalwadde baabwe ku nguudo z'omu kibuga, ne babateekanga ku mikeeka ne ku bitanda, Peetero bwaba ayita ekisiikirize kye kituuke ku bamu. Era ebibiina ne bikuŋŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, nga baleeta abalwadde n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonna. Naye kabona asinga obukulu ne bonna abaali naye ab'omu kibiina ky'Abasaddukaayo, ne bajjula obuggya, ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly'abantu bonna. Naye malayika wa Mukama ekiro n'aggulawo enzigi ez'ekkomera, n'abafulumya, n'abagamba nti, “ Mugende, muyimirire mu Yeekaalu mubuulire abantu ebigambo byonna eby'obulamu buno.” Bwe baawulira ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Naye kabona asinga obukulu n'ajja n'abaali naye, n'ayita olukiiko n'abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu kkomera okubaleeta. Naye abaami abaagenda tebaabasanga mu kkomera, ne bakomawo, ne boogera nga bagamba nti, “ Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.” Bwe baawulira ebigambo ebyo omukulu wa Yeekaalu ne bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kijja okubuna. Omuntu n'ajja n'ababuulira nti, “ Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu Yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu.” Awo omukulu n'abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja. Ne babaleeta ne babateeka mu maaso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuuza ng'agamba nti, “Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo.” Naye Peetero n'abatume ne baddamu ne bagamba nti, “ Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu. Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe bwe mwamuwanika ku muti. Oyo Katonda yamulinnyisa ku mukono gwe ogwa ddyo okubeera omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n'okuggyibwako ebibi: naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawa abamugondera.” Naye bo bwe baawulira ne balumwa nnyo, ne baagala okubatta. Naye omuntu n'ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, Omuyigiriza w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n'alagira bazze abasajja ebweru akaseera: n'abagamba nti, “ Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby'abantu bano, kye mugenda okubakolako. Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng'agamba nti, ‘ ye muntu omukulu.’ Abantu nga bikumi bina (400) ne beegatta naye, n'attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma. Oluvannyuma lwe ne wasituka wo Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumugoberera: n'oyo n'abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana. Ne kaakano mbagamba nti, ‘ Mwebalame abantu bano, mubaleke,’ kubanga okuteesa kuno n'omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira; naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng'abalwana ne Katonda.” Ne bamuwulira: ne bayita abatume, ne babakuba, ne babalagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata. Awo ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw'Erinnya. Buli lunaku mu Yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n'okubuuliranga Yesu nga ye Kristo. Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya okwava mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe basosolwanga ne bataweebwanga kyenkanyi ebintu ebyabagabirwanga bulijjo. Ekkumi n'ababiri (12) ne bayita ekibiina ky'abayigirizwa, ne bagamba nti, “Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza. Kale, ab'oluganda, mulonde abantu mu mmwe abasiimibwa musanvu, abajjudde Omwoyo Omutukuvu n'amagezi, be tunaateeka ku mulimu guno; naye ffe tunaanyiikiranga mu kusaba n'okuweereza ekigambo.” Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maaso g'ekibiina kyonna; ne balonda Suteefano, omuntu eyajjula okukkiriza n'Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow'e Antiyokiya; ne babateeka mu maaso g'abatume; ne basaba, ne babassaako emikono. Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw'abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okukkiriza. Suteefano bwe yajjula ekisa n'amaanyi n'akolanga amagero n'obubonero obunene mu bantu. Naye ne bayimuka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abalibettino, n'ery'Abakuleene n'ery'Abalegezanderiya n'ery'Abakirukiya n'ery'Abasiya, nga bawakana ne Suteefano: so tebaayinza kusobola magezi n'Omwoyo bye yayogeza. Awo ne baweerera abantu abaagamba nti, “ Twawulira oyo ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda.” Ne bakubiriza abantu, n'abakadde n'abawandiisi, ne bajja gy'ali, ne bamukwata, ne bamutwala mu lukiiko, ne bayimiriza abajulirwa ab'obulimba abaagamba nti, “ Omuntu oyo taleka kwogera bigambo ku kifo kino ekitukuvu n'amateeka: kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaaleesi oyo alizikiriza ekifo kino, aliwaanyisa n'empisa ze twaweebwa Musa.” Bwe baamwekaliriza amaaso, bonna abaali batudde mu lukiiko ne bamulaba amaaso ge nga gafaanana ng'aga malayika. Kabona asinga obukulu n'ayogera nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?” Suteefano n'agamba nti, “Abasajja ab'oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani, n'amugamba nti,‘ Va mu nsi yannyo ne mu kika kyo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’ Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Kalani: oluvannyuma kitaawe bwe yamala okufa, n'amuggyayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutudde kaakano; so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana. Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakola obubi emyaka bikumi bina (400). N'eggwanga eriribafuula abaddu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yayogera Katonda: n'oluvannyuma balivaayo balinsinziza mu kifo kino. N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri (12).” “Bajjajja abakulu bwe baakwatirwa Yusufu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abeeranga naye, n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w'e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna. Enjala n'egwa ku nsi yonna ey'e Misiri n'eya Kanani, n'ennaku nnyingi, so ne batalaba mmere bajjajjaffe. Naye Yakobo bwe yawulira ng'emmere enkalu eri Misiri, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogwolubereberye: n'omulundi ogwokubiri Yusufu baganda be ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo. Yusufu n'atuma n'ayita Yakobo kitaawe ne baganda be bonna, abantu nsanvu mu bataano (75). Yakobo n'akkirira e Misiri, n'afiirayo, ye ne bajjajjaffe; ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula omuwendo gw'effeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu.” “Naye ng'ebiro eby'okusuubiza bwe byali okumpi, Katonda kwe yayatulira Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri, okutuusa kabaka omulala lwe yabaawo ku Misiri ataamanya Yusufu. Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu. Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe. Bwe yasuulibwa, muwala wa Falaawo n'amutwala n'amulera ng'omwana we. Musa n'ayigirizibwa mu magezi gonna ag'e Misiri; n'abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye.” “Naye bwe yaweza emyaka ana (40), n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri. Bwe yalaba omuntu akolwa obubi, n'amutaasa, n'amuwoolera eggwanga omuntu eyali akolwa obubi, n'akuba Omumisiri. N'alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda agenda okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeera. Nate ku lunaku olwokubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka? Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri jo? Musa n'adduka olw'ekigambo ekyo, n'abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab'obulenzi.” “Awo oluvannyuma lwe emyaka ana, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi. Musa bwe yalaba ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yasembera okwetegereza, ne wabaawo eddoboozi lya Mukama nti Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira. Mukama n'amugamba nti Sumulula engatto eziri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyimiridde watukuvu. Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri.” “Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? Oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka. Oyo n'abaggyayo bwe yamala okukola amagero n'obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka ana (40).” “Oyo ye Musa oli eyagamba abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze. Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe: bajjajjaffe gwe bataayagala kuwulira, naye baamusindika eri, ne baddayo e Misiri mu mitima gyabwe, nga bagamba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitukulembera: kubanga Musa oyo, eyatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe. Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eggye ery'omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti” “ ‘Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka Emyaka ana (40) mu ddungu, ennyumba ya Isiraeri? Ne musitula eweema ya Moloki, N'emmunyeenye ya katonda Lefani, Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga: Nange ndibatwala okusukka Babbulooni.’ ” “N'eweema ey'obujulirwa yali ne bajjajjaffe mu ddungu, nga bwe yalagira eyagamba Musa okugikola ng'engeri gye yalaba bwe yali: bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi; eyasiimibwa mu maaso ga Katonda, n'asaba okumunoonyeza aw'okutuuza Katonda wa Yakobo. Naye Sulemaani n'amuzimbira ennyumba. Naye Ali waggulu ennyo tatuula mu nnyumba ezaakolebwa n'emikono; nga nnabbi bw'ayogera nti” “ ‘Eggulu ye ntebe yange, N'ensi ye ntebe y'ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw'ayogera Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwummulira? Omukono gwange si gwe gwabikola ebyo byonna?’ ” “Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajjammwe, nammwe bwe mutyo. Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby'okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta; Mmwe abaaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so temwagakwata.” Awo bwe baawulira ebyo ne balumwa mu mitima gyabwe, ne bamulumira obujiji. Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'akaliriza amaaso mu ggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; n'agamba nti, “ Laba, ntunuulidde eggulu nga libikkuse n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.” Ne baleekaana n'eddoboozi ddene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwako n'omwoyo gumu, ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abajulirwa ne bateeka engoye zaabwe ku bigere by'omulenzi, erinnya lye Sawulo. Ne bakuba amayinja Suteefano bwe yasaba n'agamba nti, “ Mukama wange Yesu, toola omwoyo gwange.” N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Mukama wange, tobabalira kibi kino.” Bwe yamala okwogera ebyo naafa. Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwa Suteefano. Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z'e Buyudaaya n'e Samaliya, okuggyako abatume. Abantu abatya Katonda ne baziika Suteefano, ne bamukaabira nnyo. Naye Sawulo n'afuba okusaanyawo ekkanisa, ng'ayingira mu buli nju, ng'awalula abasajja n'abakazi n'abateeka mu kkomera. Awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo. Firipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samaliya, n'ababuulira Kristo. Ebibiina ne biwulira n'omwoyo gumu ebigambo Firipo by'ayogedde, bwe baawulira ne balaba eby'amagero ge yakolanga. Kubanga bangi ku bo abaaliko badayimooni, ne babavangako nga bakaaba n'eddoboozi ddene: ne bawonanga bangi abaali balwadde okukoozimba n'abalema. Essanyu lingi ne libeera mu kibuga omwo. Naye waaliwo omuntu omu, erinnya lye Simooni, eyakolanga eddogo edda mu kibuga omwo n'awuniikirizanga eggwanga ly'e Samaliya, ng'agamba nti, ye mukulu; ne bamuwuliranga bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, nga bagamba nti, “ Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa Amangi.” Ne bamuwuliranga, kubanga ennaku nnyingi yabawuniikirizanga n'okuloga kwe. Naye bwe bakkiriza Firipo ng'abuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda n'erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n'abakazi. Era ne Simooni yennyini n'akkiriza: bwe yamala okubatizibwa n'abeeranga wamu ne Firipo; bwe yalabanga eby'amagero n'obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya. Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nga e Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. Nabo bwe baatuuka ne babasabira okuweebwa Omwoyo Omutukuvu: kubanga yali tannaba kubakkako n'omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. Awo ne babassaako emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu. Naye Simooni bwe yalaba ng'olw'okussibwako emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera effeeza ng'agamba nti, “ Mumpe nange obuyinza buno buli gwe nnassangako emikono aweebwenga Omwoyo Omutukuvu.” Naye Peetero n'amugamba nti, “ Effeeza yo ezikirire naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda n'ebintu. Tolina mugabo newakubadde okugabana mu kigambo kino: kubanga omutima gwo si mugolokofu mu maaso ga Katonda. Kale weenenye obubi bwo obwo, osabe Mukama waffe, mpozzi olisonyiyibwa ekirowoozo eky'omu mutima gwo. Kubanga nkulaba oli mu mususa ogukaawa ne mu nvuba y'obubi.” Simooni n'addamu n'agamba nti, “Munsabire mmwe eri Mukama ebigambo ebyo bye mwogedde bireme okumbaako n'ekimu.” Awo bwe baamala okutegeeza n'okubuulira ekigambo kya Mukama waffe, ne baddayo e Yerusaalemi, ne babuulira Enjiri mu mbuga nnyingi ez'Abasamaliya. Awo malayika wa Mukama n'agamba Firipo nti, “ Golokoka, ogende obukiikaddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza.” Ekkubo eryo lya ddungu. N'agolokoka n'agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow'Abaesiyopya, eyali omuwanika w'ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza, yali atudde mu ggaali ye ng'addayo ewaabwe, ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. Omwoyo n'agamba Firipo nti, “Sembera, weegatte n'eggaali eyo.” Firipo n'adduka n'atuuka ku ggaali, n'amuwulira Omuwesiyopya ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'agamba nti, “Otegeera by'osoma?” N'amuddamu nti, “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo andagirira?” Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye. Ekyawandiikibwa kye yali asoma kyali kigamba nti, Yatwalibwa okuttibwa ng'endiga, Era ng'omwana gw'endiga mu maaso g'omusazi w'ebyoya bwe gusirika, Bwe kityo teyayasamya kamwa ke: Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo: Ekika kye ani alikinnyonnyola? Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi. Omulaawe n'abuuza Firipo nti, “ Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Yeeyogerako yekka oba ayogera ku muntu mulala?” Firipo n'ayasama akamwa ke n'asookera ku kyawandiikibwa kino n'amubuulira Yesu. Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti, “ Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?” [ Firipo n'agamba nti, Oba ng'okkirizza n'omutima gwo gwonna, kirungi. N'addamu n'agamba nti, Nzikkirizza Yesu Kristo nga ye Mwana wa Katonda.] N'alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi, Firipo n'amubatiza. Bwe baava mu mazzi, Omwoyo wa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba nate, naye n'agenda ng'asanyuka. Naye Firipo n'alabikira mu Azoto, n'agenda ng'abuulira Enjiri mu bibuga byonna okutuukira ddala e Kayisaliya. Naye Sawulo bwe yali akyayogera ebigambo eby'okukanga n'eby'okutta abayigirizwa ba Mukama waffe, n'agenda eri kabona asinga obukulu, n'amusaba ebbaluwa ez'okugenda e Ddamasiko, eri amakuŋŋaaniro, bw'alirabayo abantu ab'Ekkubo, oba nga basajja oba bakazi, abasibe abaleete e Yerusaalemi. Awo bwe yali ng'atambula, ng'anaatera okutuuka e Ddamasiko, amangwago omusana oguva mu ggulu ne gumwakira okumwetooloola, n'agwa wansi, n'awulira eddoboozi nga limugamba nti, “ Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?” N'agamba nti, “ Ani ggwe, Mukama wange?” Ye n'agamba nti, “ Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe: naye golokoka oyingire mu kibuga; onoobuulirwa ebikugwanidde okukola.” Naye abaali batambula naye ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga bawulidde eddoboozi naye ne batalaba muntu. Sawulo n'agolokoka wansi, n'agezaako okutunula naye ng'amaaso ge nga tegalaba, ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Ddamasiko. N'amala ennaku ssatu nga talaba, era nga talya, wadde nga tanywa. Yaliyo omuyigirizwa mu Ddamasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waffe n'amugamba mu kwolesebwa nti, “ Ananiya.” N'addamu nti, “nze nzuuno, Mukama wange.” Mukama waffe n'amugamba nti, “ Golokoka ogende mu kkubo eriyitibwa Eggolokofu, obuulize mu nnyumba ya Yuda, omuntu erinnya lye Sawulo ow'e Taluso; kubanga, laba, asaba; era alabye omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira, ng'amussaako emikono azibule.” Naye Ananiya n'addamu nti, “ Mukama wange, omuntu oyo nnawulira ebigambo bye mu bangi, obubi bwe yakolanga abatukuvu bo abali e Yerusaalemi bwe buli obungi: ne wano alina obuyinza obuva eri bakabona abakulu okubasiba bonna abasaba mu linnya lyo.” Naye Mukama waffe n'amugamba nti, “ Genda; kubanga oyo kye kibya ekironde gye ndi okutwalanga erinnya lyange mu maaso g'amawanga ne bakabaka n'abaana ba Isiraeri. Kubanga ndimulaga ebigambo bwe biri ebingi ebimugwanidde okubonyaabonyezebwa olw'erinnya lyange.” Ananiya n'agenda n'ayingira mu nnyumba, bwe yamussaako emikono n'ayogera nti, “ Ow'oluganda Sawulo, Mukama waffe antumye, Yesu eyakulabikira mu kkubo ng'ojja, ozibule ojjuzibwe Omwoyo Omutukuvu.” Amangwago ku maaso ge ne kuba ng'okuvuddeko amagamba, n'azibula, n'ayimirira n'abatizibwa. N'alya emmere n'afuna amaanyi. N'abeera n'abayigirizwa abaali mu Ddamasiko ennaku nnyingiko. Amangwago n'abuulira Yesu mu makuŋŋaaniro ng'oyo ye Mwana wa Katonda. Bonna abaamuwulira ne beewuunya ne bagamba nti, “Si y'ono eyayigganyanga ennyo mu Yerusaalemi abaasabanga erinnya eryo? Kye kyamuleeta ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu.” Naye Sawulo ne yeeyongeranga okuba n'amaanyi n'akwasanga ensonyi Abayudaaya abaali batuula e Ddamasiko, ng'ategeereza ddala nti oyo ye Kristo. Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi, Abayudaaya ne bateesa okumutta. Naye amagezi gaabwe Sawulo n'agamanya. Ne bateeganga ne ku nzigi emisana n'ekiro okumutta. Naye abayigirizwa be ne bamutwala kiro ku kisenge, ne bamussiririza mu kisero. Bwe yatuuka e Yerusaalemi n'agezaako okwegatta n'abayigirizwa: ne bamutya bonna, nga tebannaba kukkiriza nga naye muyigirizwa. Naye Balunabba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abannyonnyola bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo, era nti yayogera naye, ne bwe yabuulira n'obugumu mu Ddamasiko mu linnya lya Yesu. N'abeeranga wamu nabo ng'ayingiranga ng'afulumanga mu Yerusaalemi, ng'abuuliranga n'obugumu mu linnya lya Mukama waffe: n'ayogera n'awakananga n'Abakerenisiti: naye ne bagezaako okumutta. Ab'oluganda bwe baategeera ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso. Awo ekkanisa eyali mu Buyudaaya bwonna ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya n'eba n'emirembe, ng'ezimbibwanga; era ng'etambuliranga mu kutya Mukama waffe ne mu ssanyu ery'Omwoyo Omutukuvu ne yeeyongera. Awo olwatuuka Peetero bwe yali ng'ayita wonna wonna, n'aserengeta eri abatukuvu abaali batuula mu Luda: n'asangayo omusajja erinnya lye Ayineya eyali yaakamala ku kitanda emyaka munaana, olw'endwadde y'okukoozimba. Peetero n'amugamba nti, “ Ayineya, Yesu Kristo akuwonya: yimirira, weeyalire.” Amangwago n'ayimirira. Bonna abaali batuula mu Luda ne mu Saloni ne bamulaba ne bakyukira Mukama waffe. Awo waaliwo mu Yopa omukazi omuyigirizwa, erinnya lye Tabbiisa, mu Luyonaani ng'ayitibwa Doluka, omukazi oyo yali ajjudde ebikolwa ebirungi n'ebintu bye yagabanga. Olwatuuka mu nnaku ezo n'alwala n'afa: bwe baamala okumunaaza ne bamuteeka mu kisenge ekya waggulu. Era kubanga Luda kyali kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawulira nga Peetero gyali, ne bamutumira abantu babiri nga bamwegayirira nti, “ Tolwa, jjangu gyetuli.” Peetero n'agolokoka n'agenda nabo. Bwe yatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu: ne bannamwandu bonna ne bayimirira kumpi naye, nga bakaaba nga boolesa ebizibawo n'ebyambalo Doluka bye yakolanga ng'akyali nabo. Naye Peetero n'abafulumya bonna n'afukamira n'asaba; n'akyukira omulambo n'agamba nti, “ Tabbiisa, yimirira.” N'azibula amaaso ge; awo bwe yalaba Peetero, n'agolokoka n'atuula. N'amuwa omukono n'amuyimusa; awo bwe yamala okuyita abatukuvu ne bannamwandu, n'abamukwasa nga mulamu, Ne kitegeerwa mu Yopa kyonna; bangi ne bakkiriza Mukama waffe. Awo olwatuuka n'alwayo ennaku nnyingi mu Yopa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba. Waaliwo omusajja mu Kayisaliya, erinnya lye Koluneeriyo, omwami w'ekitongole ekyayitibwanga Ekitaliano, omwegendereza, atya Katonda awamu n'ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, era ng'asaba Katonda buli kiseera. Mu ssaawa ng'ey'omwenda ey'olunaku n'alabira ddala mu kwolesebwa malayika wa Katonda ng'ayingira gyali n'amuyita nti, “ Koluneeriyo.” Koluneeriyo n'amutunuulira enkaliriza ng'atidde nnyo. N'agamba nti, “Kiki, Mukama wange?” N'amuddamu nti, “ Okusaba kwo n'okugaba kwo birinnye ng'ekijjukizo mu maaso ga Katonda. Era kaakano tuma abantu e Yopa, oyiteyo omuntu Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero: oyo yakyazibwa omuntu Simooni, omuwazi w'amaliba, n'ennyumba ye eri ku lubalama lw'ennyanja.” Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab'omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga bulijjo; bwe yamala okubategeeza ebigambo byonna n'abatuma e Yopa. Awo ku lunaku olwokubiri, bwe baali nga batambula abo, nga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n'alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey'omukaaga. N'alumwa enjala n'ayagala okulya. Naye bwe baali nga bajjula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa; n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya, n'essibwa wansi: ng'erimu ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n'ebyewalula eby'oku nsi n'ennyonyi ez'omu bbanga. N'awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Golokoka, Peetero, osale olye.” Naye Peetero n'addamu nti, “ Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo oba ekitali kirongoofu.” Eddoboozi nate ne lijja gy'ali omulundi ogwokubiri nti, “ Ekyo Katonda kyalongooseza tokiyita kitali kirongoofu.” Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangwago ekintu ne kizzibwayo mu ggulu. Awo Peetero bwe yali ng'akyebuuza munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi, ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero, yakyazibwa omwo. Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n'amugamba nti, “ Laba, abantu basatu bakunoonya. Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye.” Peetero n'akka wansi n'agenda eri abasajja n'agamba nti, “Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese?” Ne bagamba nti, “Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe.” Awo n'abayingiza n'abaaniriza. Awo ku lunaku olwokubiri Peetero n'agolokoka n'asitula wamu nabo, n'ab'oluganda abamu ab'omu Yopa ne bagenda naye. Awo ku lunaku olwokubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng'abalindirira ng'akuŋŋaanyizza ab'ekika kye n'abaali mikwano gye ennyo. Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira mu nnyumba, Koluneeriyo n'agwa wansi ku bigere bya Peetero, n'amusinza. Naye Peetero n'amuyimusa n'amugamba nti, “ Yimirira, nange ndi muntu buntu.” Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye, n'abagamba nti, “Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita omuntu yenna ow'omuzizo oba omubi. Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyenva mbuuza nti Kiki ekimpisizza?” Awo Koluneeriyo n'agamba nti, “Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n'ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimasamasa, n'agamba nti, ‘Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda. Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n'ennyanja.’ Awo amangwago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.” Awo Peetero n'atandika okwogera n'agamba nti: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu buli ggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza. Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng'abuulirira emirembe mu Yesu Kristo, ye Mukama w'ebintu byonna, mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw'okubatiza kwe yabuulira Yokaana, Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye. Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti. Oyo Katonda n'amuzuukiriza ku lunaku olwokusatu n'amulaga mu lwatu, si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu. N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango w'abalamu n'abafu. Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.” Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo. Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku b'amawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa. Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'abuuza nti, “ Waliwo omuntu yenna ayinza okugaana abantu bano okubatizibwa n'amazzi, abafunye Omwoyo Omutukuvu nga ffe?” N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Ne bamusaba agira abeera nabo okumalayo ko ennaku. Abatume n'ab'oluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira nga ab'amawanga nabo bakkirizza ekigambo kya Katonda. Awo Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemi, bali abakomole ne bawakana naye nga bagamba nti, “Lwaki wagenda mu bantu abatali bakomole n'olya nabo?” Awo Peetero n'atandika okubannyonnyola kinnakimu ng'agamba nti, “Nze nnali mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku nsonda nnya okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira: bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'ebyewalula n'ennyonyi ez'omu bbanga. Era ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘ Peetero, yimirira osale olye.’ Naye ne ŋŋamba nti, ‘ Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekitali kirongoofu tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono.’ Naye eddoboozi ne linziramu omulundi ogwokubiri nga liva mu ggulu nti, ‘ Katonda kyalongooseza tokifuulanga ggwe kya muzizo.’ Ne kiba bwe kityo emirundi esatu; byonna ne birinnyisibwa nate mu ggulu. Kale, laba, amangwago abantu basatu baali nga bayimiridde mu maaso g'ennyumba mwe twali, abaatumibwa gye ndi okuva e Kayisaliya. Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli; n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti, ‘ Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye eryokubiri Peetero; alikubuulira ebigambo ebirikulokola ggwe n'ennyumba yo yonna.’ Bwe nnali kye njije ntandike okwogera, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako era nga bwe yasookera ku ffe. Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu.’ Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda?” Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “ Kale Katonda awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.” N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka. Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu. N'omukono gwa Mukama waffe gwali nabo: ekibiina kinene eky'abakkiriza ne bakyukira Mukama waffe. Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekkanisa eyali mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya: naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti, “ Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe.” Kubanga yali muntu mulungi, n'ajjula Omwoyo Omutukuvu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waffe. N'avaayo okugenda e Taluso okunoonya Sawulo, bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya. Mu nnaku ezo bannabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyokiya. N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo. Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yalina ebintu, ne bateesa okuweereza ab'oluganda abaali batuula e Buyudaaya: n'okukola ne bakola bwe batyo ne baweereza abakadde mu mukono gwa Balunabba ne Sawulo. Mu biro ebyo kabaka Kerode n'atandika okuyigganya abamu ab'omu kkanisa. N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yokaana. Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero mu nnaku ez'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga (16) okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde. Awo Peetero n'akuumirwa mu kkomera: naye ab'ekkanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda. Ku lunaku Kerode lwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, abakuumi baali ku luggi nga bakuuma ekkomera. Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti, “ Yimuka mangu.” Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa. Malayika n'amugamba nti, “ Weesibe, oyambale engatto zo.” N'akola bw'atyo. N'amugamba nti, “ Yambala ekyambalo kyo, ongoberere.” N'afuluma, n'amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by'akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa. Bwe baayita ku bakuumi abaasookerwako n'abokubiri ne batuuka ku luggi olw'ekyuma oluyitibwako okutuuka mu kibuga: ne lubaggukirawo lwokka: ne bafuluma ne bayita mu kkubo limu; amangwago malayika n'amuleka. Peetero bwe yeddamu n'agamba nti, “ Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anzigya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.” Bwe yalowooza n'ajja mu nnyumba ya Malyamu eyali nnyina Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko, mwe baali bakuŋŋaanidde abangi nga basaba. Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'omu mulyango omuzaana n'ajja okuyitaba, erinnya lye Looda. Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n'ataggulawo luggi olw'essanyu, naye n'addayo mangu n'agamba nti, “ Peetero ayimiridde ebweru ku luggi.” Ne bamugamba nti, “ Olaluse.” Naye n'akaliriza nti Weewaawo. Ne bagamba nti Ye malayika we. Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baggulawo ne bamulaba ne basamaalirira. Naye bwe yabawenya n'omukono okusirika, n'ababuulira Mukama waffe bw'amuggye mu kkomera. N'agamba nti, “ Mubuulire ebyo Yakobo n'ab'oluganda.” N'avaayo n'agenda mu kifo awalala. Awo bwe bwakya enkya, basserikale ne beegugumula nnyo nti, “ Peetero nno abadde ki?” Kerode bwe yamunoonya n'atamulaba n'abuuliriza abakuumi n'alagira okubatta. N'ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n'atuula eyo. N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka. Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n'ayambala ebyambalo eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe, n'abagamba ebigambo. Abantu bonna ne boogerera waggulu nti, “ Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.” Amangwago malayika wa Mukama n'amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n'aliibwa envunyu, n'afa. Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga. Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko. Mu kkanisa y'omu Antiyokiya yaliyo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo. Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti, “ Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.” Awo ne basiiba ne basaba ne babassaako emikono ne babatuma. Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawunguka okulaga e Kupulo. Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza. Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow'obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa; eyali awamu n'owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayita Balunabba ne Sawulo, n'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. Naye Eruma omulogo, kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa, n'awakana nabo, ng'ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza. Naye Sawulo, era ye Pawulo, bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, bwe yamwekaliriza amaaso, n'agamba nti, “ Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n'okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu? Kaakano, laba, omukono gwa Mukama waffe guli ku ggwe, onooba muzibe wa maaso nga tolaba njuba ebiro bingiko.” Amangwago ekifu ne kimugwako, n'enzikiza; n'awammanta n'anoonya abantu ab'okumukwata ku mukono. Awo owessaza bwe yalaba bwe kibadde n'akkiriza nga yeewuunya nnyo okuyigiriza kwa Mukama waffe. Awo Pawulo ne banne ne basaabala okuva mu Pafo, ne batuuka e Peruga eky'e Panfuliya: Yokaana n'abalekayo n'addayo e Yerusaalemi. Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula. Bwe baamala okusoma amateeka n'ebya bannabbi, abakulu b'ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti, “ Abasajja ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.” Pawulo n'ayimirira n'abawenya n'omukono n'agamba nti: “Abasajja Abaisiraeri, nammwe abatya Katonda, muwulire. Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n'agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogwagulumizibwa. N'abagumiikiriza mu ddungu emyaka ng'ana (40). Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n'abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka bina mu ataano (450). Oluvannyuma lw'egyo n'abawa abalamuzi okutuuka ku nnabbi Samwiri. Oluvannyuma ne baagala kabaka; Katonda n'abawa Sawulo omwana wa Kiisi wa mu kika kya Benyamini, n'amala emyaka ana (40). Bwe yamuggyaawo oyo, n'abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng'amutegeeza nti, ‘Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna.’ Oyo mu zzadde lye nga Katonda bwe yasuubiza, aleetedde Isiraeri Omulokozi Yesu, Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri. Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n'agamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja oluvannyuma lwange gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye.’ ” “Ab'oluganda, abaana b'ekika kya Ibulayimu, nammwe mwenna abatya Katonda, ekigambo eky'obulokozi buno kyaweerezebwa waffe. Kubanga abatuula mu Yerusaalemi n'abakulu baabwe bwe bataamumanya oyo newakubadde amaloboozi ga bannabbi agasomebwa buli ssabbiiti, kyebaava babituukiriza bwe baamusalira omusango. Bwe bataalaba nsonga ya kumutta, ne basaba Piraato okumutta. Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako ne bamuwanula ku muti ne bamuteeka mu ntaana. Naye Katonda n'amuzuukiza mu bafu: n'abalabikira ennaku nnyingi abaayambuka naye okuva e Ggaliraaya okutuuka e Yerusaalemi, be bajulirwa be kaakano eri abantu. Ffe tubabuulira ebigambo ebirungi, eby'okusuubiza okwasuubizibwa bajjajja nti Katonda akutuukirizza eri abaana baffe bwe yazuukiza Yesu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyokubiri nti,” “ ‘Ggwe mwana wange, nkuzadde leero.’ ” “Era kubanga yamuzuukiza mu bafu nga tagenda nate kuddayo mu kuvunda, yagamba bw'ati nti,” “ ‘Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakkalira egya Dawudi.’ ” Kubanga yayogera ne mu Zabbuli endala nti, “‘Toliwaayo Mutukuvu wo okuvunda.’ ” “Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza mu biro bye nga Katonda bwe yateesa, naafa n'ateekebwa eri bajjajjaabe, n'avunda: naye oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda. Kale, abasajja ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okuggyibwako ebibi kubuuliddwa; byonna bye mutandiyinzizza kuggibwako mu mateeka ga Musa, ku bw'oyo buli akkiriza abiggibwako. Kale mwekuume kireme okujja ku mmwe ekyayogerwa bannabbi nti,” “ ‘Laba, mmwe abanyooma, mwewuunye, mubule; Kubanga nze nkola omulimu mu nnaku zammwe Omulimu gwe mutalikkiriza newakubadde omuntu ng'agubabuulidde nnyo.’” Bwe baafuluma ne babeegayirira okubabuulira ebigambo bino ku ssabbiiti eyokubiri. Ekibiina bwe kyasaasaana bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne bagoberera Pawulo ne Balunabba: nabo ne boogera nabo ne babasendasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda. Awo ku ssabbiiti eyokubiri ne bakuŋŋaana kumpi kibuga kyonna okuwulira ekigambo kya Katonda. Naye Abayudaaya bwe baalaba ekibiina, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, nga babivuma. Pawulo ne Balunabba ne boogera n'obuvumu nti, “ Kyagwana okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu mmwe. Kubanga mukisindiikiriza so temweraba kusaanira bulamu obutaggwaawo, laba, tukyukira eri ab'amawanga.” Kubanga Mukama yatulagira bw'ati nti, “‘Nkuteeseewo okubanga omusana gw'amawanga, Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y'ensi.’” Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumiza ekigambo kya Katonda: bonna ne bakkiriza abaali baterekeddwa obulamu obutaggwaawo. Ekigambo kya Mukama waffe ne kibuna mu nsi eri yonna. Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayigganyisa Pawulo ne Balunabba, ne babagoba mu mbibi zaabwe. Naye ne babakunkumulira enfuufu ey'omu bigere ne bajja okutuuka Ikoniyo. Abayigirizwa ne bajjula essanyu n'Omwoyo Omutukuvu. Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani. Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda. Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe. Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya abamu ku ludda lw'abatume. Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja, bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo: ne babeera eyo nga babuulira Enjiri. Mu Lusitula yaliyo omuntu nga talina maanyi mu bigere n'abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n'akatono. Oyo n'awulira Pawulo ng'ayogera: naye n'amwekaliriza amaaso n'alaba ng'alina okukkiriza okulokoka, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “ Yimirira ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula.” Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti, “ Bakatonda basse gyetuli nga bafaanana abantu.” Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubanga ye yasinga okwogera. Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina. Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu nga bagamba nti, “ Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu: mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago: naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n'ebiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.” Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka. Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde. Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n'ayimirira n'ayingira mu kibuga: ku lunaku olwokubiri n'agenda ne Balunabba okutuuka e Derube. Bwe baamala okubuulira Enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya, nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza. Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya. Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya; ne bavaayo ne bawunguka ne batuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza. Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza. Ne bamalayo ebiro bingi wamu n'abayigirizwa. Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab'oluganda nti, “ Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.” Bwe waali empaka ennyingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo ne Balunabba, ku luuyi olumu, n'abo abaava e Buyudaaya, ne balagira Pawulo ne Balunabba n'abalala ku bo okugenda e Yerusaalemi eri abatume n'abakadde olw'empaka ezo. Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab'ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyusiza ddala ab'oluganda bonna. Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab'ekkanisa n'abatume n'abakadde ne babasembeza, ne babuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo. Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti, “ Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.” Abatume n'abakadde ne bakuŋŋaana okwetegereza ekigambo ekyo. Bwe waali okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayimirira n'abagamba nti, “Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'Enjiri ne bakkiriza. Ne Katonda amanyi emitima n'abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ffe; n'atayawula ffe nabo, bwe yalongoosa emitima gyabwe olw'okukkiriza. Kale kaakano mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu bulago bw'abayigirizwa bajjajjaffe kye bataayinza kutwala newakubadde ffe? Naye tukkiriza okulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era nabo bwe batyo.” Ekibiina kyonna ne kisirika; ne bawulira Balunabba ne Pawulo nga bannyonnyola obubonero n'eby'amagero byonna Katonda bye yabakozanga mu mawanga. Abo bwe baamala okusirika Yakobo n'addamu ng'agamba nti: “Abasajja ab'oluganda, mumpulire. Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu. Ebigambo bya bannabbi bitabagana n'ebyo nga bwe kyawandiikibwa nti,” “‘Oluvannyuma lw'ebyo ndikyuka, Ndizimba nate eweema ya Dawudi eyagwa; Okumenyeka kwayo ndikuzimba nate, Era ndigigolokosa: Abantu abasigalawo banoonye Mukama, N'amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange ku bo, Bw'ayogera Mukama, ategeeza ebyo byonna okuva ku lubereberye lw'ensi.’ ” “Kyenva nsalawo tuleme okuteganya abava mu mawanga okukyukira Katonda; Naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw'ebifaananyi, n'obwenzi, n'ebitugiddwa, n'omusaayi. Kubanga okuva edda Musa alina mu buli kibuga abamubuulira, ng'asomebwa mu makuŋŋaaniro buli ssabbiiti.” Awo ne bakisiima abatume n'abakadde wamu n'ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n'okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b'oluganda: ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti, “ Abatume n'ab'oluganda abakadde tulamusizza ab'oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga: kubanga tuwulidde nti Abantu abaava ewaffe baabasasamaza n'ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga; tusiimye, bwe tutabaganye n'omwoyo gumu, okulonda abantu okubatuma gye muli wamu n'abaagalwa baffe Balunabba ne Pawulo, abantu abaasingawo obulamu bwabwe olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. Kyetuvudde tutuma Yuda ne Siira era abalibabuulira obumu bennyini n'akamwa. Kubanga Omwoyo Omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana, okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n'omusaayi, n'ebitugiddwa, n'obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba.” Awo bo bwe baasindikibwa ne bajja e Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ne babakwasa ebbaluwa. Bwe baasoma ne basanyuka olw'okubuulirirwa okwo. Yuda ne Siira, kubanga nabo baali bannabbi, ne babuulirira ab'oluganda mu bigambo bingi, ne babagumya. Bwe baamalayo ebiro, ne basiibulwa ab'oluganda n'emirembe okuddayo eri abaabatuma. Naye Siira yasiima okusigalayo. Naye Pawulo ne Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga bayigirizanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waffe wamu n'abalala bangi era. Ennaku bwe zaayitawo Pawulo n'agamba Balunabba nti, “ Kale tuddeyo tulambule ab'oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Mukama waffe, tulabe nga bwe bali.” Balunabba era n'ayagala okutwala Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko: naye Pawulo teyasiima kumutwala oyo eyabaleka mu Panfuliya n'atagenda nabo ku mulimu. Ne wabaawo empaka nnyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Makko n'awanika amatanga okugenda e Kupulo; naye Pawulo n'alonda Siira, n'avaayo, ab'oluganda bwe baamusigira ekisa kya Mukama waffe. N'ayita mu Busuuli ne Kirukiya ng'agumya ekkanisa. Awo Pawulo n'atuuka e Derube ne Lusitula. Eyo waliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w'omukazi Omuyudaaya omukkiriza, naye nga kitaawe Muyonaani; ab'oluganda abaali mu Lusitula ne Ikonio baali bamwogerako bulungi. Pawulo n'ayagala okugenda ne Timoseewo, n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baali bamanyi nga kitaawe bw'ali Muyonaani. Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babakuutira okukwatanga ebyalagirwa abatume n'abakadde abaali mu Yerusaalemi. Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku. Awo Pawulo ne banne ne bayita mu nsi y'e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya; bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu Bisuniya, n'Omwoyo wa Yesu n'atabakkiriza; ne bayita buyisi e Musiya, ne batuuka e Tulowa. Pawulo n'afuna okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng'ayimiridde era ng'amwegayirira ng'agamba nti, “Jjangu eno ewaffe e Makedoni otuyambe.” Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangwago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira Enjiri. Awo ne tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Samoserakiya, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Neyapoli; ne tuvaayo okutuuka e Firipi, ekibuga ekikulu eky'e Makedoni ekisookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku. Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n'abakazi abaakuŋŋaana. Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w'engoye ez'effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n'atuwulira: Mukama waffe n'amubikkula omutima gwe n'asaayo omwoyo kw'ebyo Pawulo bye yayogera. Bw'atyo bwe yabatizibwa n'ab'omu nnyumba ye bonna, n'atwegayirira ng'agamba nti, “ Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo.” N'atuwaliriza. Awo olwatuuka bwe twali tugenda wali awaasabirwanga, ne tusisinkana omuwala eyaliko omwoyo ogulagula, eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula. Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery'obulokozi.” N'akolanga bw'atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n'akyuka n'agamba dayimooni nti, “ Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo muveeko.” N'amuvaako mu kiseera ekyo. Naye bakama be bwe baalaba ng'essuubi ly'ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu, ne babatwala eri abalamuzi ne bagamba nti, “Abasajja bano Abayudaaya basasamaza nnyo ekibuga kyaffe, bayigiriza empisa ezitakkirizibwa ffe Abaruumi okukwata oba okukola.” Ekibiina ne kibagolokokerako wamu: abalamuzi ne babayuliza engoye zaabwe, ne balagira okubakuba emiggo. Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindika mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo: oyo bwe yalagirwa bw'atyo n'abateekera ddala mu kkomera ery'omunda, n'ebigere byabwe n'abissa mu nvuba. Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali basaba, era nga bwe bayimbira Katonda, nga n'abasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana. Amangwago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka. Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye. Naye Pawulo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba nti, “Teweekola kabi: kubanga fenna tuli wano.” N'asaba ettaala, n'ayanguwa n'ayingira munda mu kkomera, n'agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira, ng'akankana, n'abafulumya ebweru n'agamba nti, “ Bassebo, kiŋŋwanidde kukola ki okulokolebwa?” Ne bagamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo.” Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye. N'abatwala mu kiseera ekyo ekiro n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa ye n'ennyumba ye yonna. N'abatwala mu nnyumba ye, n'abawa emmere, n'asanyuka nnyo n'ennyumba ye yonna ng'akkirizza Katonda. Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti, “Musumulule abantu abo.” Omukuumi w'ekkomera n'abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumye okubasumulula: kale kaakano mufulume, mugende n'emirembe. Naye Pawulo n'abagamba nti, “ Batukubidde mu maaso g'abantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli bantu Baruumi, ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye.” Abasserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi: ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga. Ne bafuluma mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab'oluganda ne babagumya ne bagenda. Awo batambula ne bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya. Awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, n'amala essabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa, ng'annyonnyola era ng'ategeeza nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti, “ Oyo Yesu nze gwe mbabuulira, ye Kristo.” Abamu ku bo ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n'Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene wamu n'abakazi abakulu mu kibuga ekyo bangi. Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya ne batandika akegugungo mu kibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni nga banoonyamu Pawulo ne Siira babatwale mu maaso g'abantu. Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu ne babatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti, “Bano abavuunika ensi bazze ne wano; ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti, Waliwo kabaka omulala, Yesu.” Ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawulira ebyo ne basasamala. Bwe baamala okweyimiriza Yasooni ne banne ne babata. Amangwago ab'oluganda ne basindika kiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya. Naye Abayudaaya b'omu Beroya baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo. Abayudaaya bangi ne bakkiriza, era n'abakazi Abayonaani bangi ab'ekitiibwa n'abasajja nabo ne bakkiriza. Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo ne mu Beroya, era ne bagendayo ne batabangula ekibiina. Awo amangwago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya. Abaawerekera Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, ne bakomawo e Beroya ng'abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy'ali. Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kujjudde ebifaananyi. Awo n'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga. Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti, “Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono?” Abamu ne bagamba nti, “ Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya,” kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira. Ne bamutwala ne bamuleeta mu Aleyopaago nga bagamba nti, “ Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli? Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okutegeera amakulu g'ebigambo bino.” Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba kuwuliranga ekigambo ekiggya. Pawulo n'ayimirira wakati mu Aleyopaago n'agamba nti: “Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale. Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira. Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono, so taweerezebwa mikono gy'abantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna; yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe: banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe: kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng'abamu ab'ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye. Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu. Kale Katonda ebiro ebyo eby'obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya, kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.” Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋŋoola; abalala ne bagamba nti, “ Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.” Bwe batyo Pawulo n'abavaamu wakati. Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukazi erinnya lye Damali n'abalala wamu nabo. Awo oluvannyuma lw'ebyo Pawulo n'ava mu Asene n'atuuka e Kkolinso. Eyo gye yasisinkanira omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali; era kubanga baalina omulimu gwe gumu, nga bakozi ba weema, n'abeeranga nabo, era n'akolanga nabo. N'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro buli ssabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani. Era Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo neyemalira ku kubuulira ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo. Naye Abayudaaya bwe batandika okumuwakanya n'okumuvuma, n'akunkumula engoye ze n'abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu, okuva kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.” Awo Pawulo n'avaayo n'agenda mu nnyumba y'omusajja erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye ng'eriraanye ekkuŋŋaaniro. Kulisupo, eyali omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa. Mukama waffe n'agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti, “Totya, naye yogeranga, tosirikanga, kubanga nze ndi wamu naawe, so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.” N'amalayo ebbanga lya mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo. Naye Galiyo bwe yali nga ye w'essaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n'omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango, nga bagamba nti, “ Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etekkirizibwa mu mateeka.” Naye Pawulo bwe yali agenda okutandika okuwoza, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti, “ Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona kwonna, nanditeekeddwa okubagumiikiriza, mmwe Abayudaaya, naye oba nga ensonga zammwe zikwata ku kubuuzagana kw'ebigambo, n'amannya n'amateeka gammwe, nze saagala kusala musango gw'ebyo.” N'abagoba awasalirwa emisango. Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Kyokka era Galiyo teyabafaako. Pawulo n'amalayo ennaku nnyingi endala nate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'asaabala ku nnyanja n'agenda e Busuuli, ng'ali wamu ne Pulisikira ne Akula. Naye nga tanasaabala yamala kumwebwa nviiri mu Kenkereya olw'obweyamo bwe yali akoze. Ne batuuka mu Efeso, bali n'abaleka eyo; naye ye yennyini n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'awakana n'Abayudaaya. Bwe bamusaba abeere nabo ennaku eziweerako, n'atakkiriza; naye n'abasiibula n'agamba nti, “ Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde.” Bwatyo n'asaabala ku nnyanja n'avaayo mu Efeso. N'agoba e Kayisaliya, n'alinnya n'alamusa ab'ekkanisa, n'aserengeta okutuuka Antiyokiya. Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n'e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna. Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu Alegezanderiya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n'atuuka mu Efeso, eyali omugezi mu byawandiikibwa. Oyo yali ng'ayigiriziddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, kyokka ng'amanyi kubatiza kwa Yokaana kwokka. N'atandika okwogera n'obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira ne bamutwala mu maka gaabwe ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda. Bwe yayagala okuwunguka okutuuka e Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa: kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo. Awo olwatuuka Apolo bwe yali e Kkolinso, Pawulo n'ayitira ku lukalu n'atuuka mu Efeso n'asangayo abayigirizwa, n'abagamba nti, “Mwaweebwa Omwoyo Omutukuvu bwe mwakkiriza?” Ne bamugamba nti, “Nedda, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu.” N'agamba nti, “ Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bagamba nti, “Mu kubatizibwa kwa Yokaana.” Pawulo n'ayogera nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja oluvannyuma lwe, ye Yesu.” Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. Pawulo bwe yabassaako emikono, Omwoyo Omutukuvu n'ajja ku bo, ne boogera ennimi no kutegeeza obunnabbi. Abantu bonna baali nga kkumi na babiri (12). N'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayogeranga n'obuvumu okumala emyezi esatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga abantu okukkiriza ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda. Naye abamu bwe baakakanyala ne batawulira, nga bavumanga Ekkubo mu maaso g'ekibiina, n'ava gye baali, n'ayawula abayigirizwa, ng'awakaniranga buli lunaku mu ssomero lya Tulaano. Ebyo ne bimala emyaka ebiri, ne bonna abaali batuula mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waffe, Abayudaaya n'Abayonaani. Katonda n'akolanga eby'amagero ebitalabwanga ko buli lunaku mu mikono gya Pawulo, n'abalwadde ne baleeterwanga ebiremba n'engoye ez'okumubiri gwe, endwadde ne dayimooni ne bibavangako. Naye waliwo abantu Abayudaaya abaagendanga nga bagoba emyoyo emibi, ne beetulinkiriza okwogera erinnya lya Mukama waffe Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bagamba nti, “ Mbalayiza Yesu Pawulo gw'abuulira.” Awo waaliwo abaana musanvu aba Sukewa Omuyudaaya kabona omukulu, abaakola bwe batyo. Dayimooni n'addamu n'abagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe b'ani?” Omuntu eyaliko dayimooni n'ababuukira n'abasinza bonna amaanyi, n'abataagulataagula, n'okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu. Ekyo ne kitegeerwa bonna Abayudaaya n'Abayonaani abaatuulanga mu Efeso; entiisa n'ebakwata bonna, erinnya lya Mukama waffe Yesu ne ligulumizibwa. Era bangi ku bo abakkiriza ne bajja, ne baatula ne bategeeza ebikolwa byabwe. Era bangi ku bo abaakolanga eby'obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna: ne babala omuwendo gwabyo ne oguwera ebitundu bya ffeeza emitwalo ettaano. Bwe kityo ekigambo kya Mukama waffe ne kyeyongeranga mu maanyi ne kiwangula. Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okuyitira mu Makedoni ne Akaya, n'okugenda e Yerusaalemi, ng'agamba nti, “Bwe ndiva eyo, kiriŋŋwanira era okugenda e Ruumi.” N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, ye n'asigala mu Asiya okumala ekiseera. Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwano kanene olw'Ekkubo. Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi wa ffeeza eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwafuniranga abaweesi amagoba amangi; n'akuŋŋaanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'agamba nti, “ Abasajja, mumanyi nti omulimu ogwo obugagga bwaffe mwe buva; mulaba era muwulira nga si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna Pawulo oyo asenzesenze era akyusizza ekibiina kinene, ng'agamba nti, ‘Abakolebwa n'emikono si bakatonda.’ Naye si ffe fekka abali mu kabi ak'omulimu gwaffe okunyoomebwanga, naye n'essabo lya Atemi katonda omukulu omukazi okulowoozebwanga nga si kintu, n'oyo n'okuggibwa n'aggibwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonna n'ensi zonna.” Bwe baawulira ne bajjula obusungu ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “ Atemi w'Abaefeso mukulu.” Ekibuga kyonna ne kijjula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu Teyatero, nga bwe bawalula Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo. Pawulo bwe yayagala okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamukkiriza. Era abakulu abamu aba Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamwegayirira aleme okwewaayo mu Teyatero. Abamu ne boogerera waggulu bulala, n'abalala bulala, kubanga ekibiina kyali kyetabudde, so n'abalala bangi ne batategeera nsonga ebakuŋŋaanyizza. Ne baggya Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ayagala okwennyonnyola ko eri abantu. Naye bwe baamutegeera nga Muyudaaya, bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi limu okumala ng'essaawa bbiri nti, “ Atemi w'Abaefeso mukulu.” Omuwandiisi bwe yasirisa ekibiina, n'agamba nti, “ Abasajja Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso kye kikuuma essabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu. Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwanidde mmwe okukkakkana n'obutakola kintu mu kwanguyiriza. Kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo so era tebavvodde katonda waffe omukazi. Kale oba nga Demeteriyo n'abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko weeziri n'abaamasaza weebali: baloopagane. Naye oba nga munoonya birala, binaasalirwa mu kkuŋŋaaniro eribaawo bulijjo. Kubanga ddala tuyinza okutuukwako akabi olw'akeegugungo kano aka leero, kubanga tewali nsonga gye tuliyinza kuwoza olw'okukuŋŋaana kuno.” Bwe yayogera bw'atyo n'asiibula ekibiina. Akacwano bwe kaamala okukkakkana, Pawulo n'ayita abayigirizwa n'ababuulirira n'abasiibula, n'avaayo okugenda e Makedoni. N'agenda ng'ayita mu bitundu ebyo ng'abagumya, n'atuuka e Buyonaani. Eyo n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga e Busuuli, n'ategeera olukwe Abayudaaya lwe baali basaze, n'asalawo okuddayo mu Makedoni. Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo n'amuwerekerako okutuuka mu Asiya wamu n'Abasessaloniika, Alisutaluuko ne Sekundo; ne Gayo ow'e Derube ne Timoseewo; n'Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo. Bano bo ne beyongerayo ne batulindirira mu Tulowa. Ffe ne tusaabala okuva e Firipi nga tumaze okukwata ennaku ez'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, ne tulyoka tubatuukako. Eyo ne tumalayo ennaku musanvu. Awo ku lunaku olwolubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkeera, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi. Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nga zaaka. Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi. Awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasumattuka n'ava ku mwaliiro ogwokusatu n'agwa ebweru n'afiirawo. Pawulo n'akka wansi n'amusitulawo, n'agamba nti, “Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwe buli munda.” N'addayo waggulu n'amenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okunyumya okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo. Omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu, ne basanyuka nnyo. Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tusaabala ne tutuuka e Aso, nga tulowooza ng'anatwegatirako eyo, naye ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. Bwe yatusanga mu Aso naasaabala naffe ne tutuuka e Mituleene. Bwe twava eyo ne tusaabala, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo; ku lunaku lwokusatu ne tugoba ku Samo; ku lunaku lwokuna ne tutuuka e Mireeto. Kubanga Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote. Bwe yali mu Mireeto n'atuma mu Efeso n'ayita abakadde b'ekkanisa. Bwe baatuuka gy'ali n'abagamba nti, “Mmwe mumanyi okuva ku lunaku olwolubereberye bwe nnalinnya mu Asiya, bwe nnabanga nammwe mu biro byonna, nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okugezesebwa ebyantukako olw'enkwe z'Abayudaaya: bwe sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n'okubayigiririzanga mu maaso g'abantu ne mu buli nju, nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katonda n'okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo. Kaakano, laba, bwe nsibiddwa mu Mwoyo, ŋŋenda e Yerusaalemi, nga simanyi bye ndiraba eyo, wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. Naye obulamu bwange sibutwala kuba kintu oba kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey'ekisa kya Katonda. Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyaddayo kulaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka. Kyenva mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonna, kubanga sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna. Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini. Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo; era mu mmwe mwekka muliva abantu nga boogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ku ludda lwabwe. Kale mutunule, mujjukire nga saalekanga kulabula n'amaziga buli muntu mu myaka esatu emisana n'ekiro. Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abaatukuzibwa. Sseegombanga ffeeza ya muntu yenna newakubadde zaabu newakubadde ekyambalo. Mmwe mumanyi ng'emikono gino gye gyakolanga bye nneetaaga n'abo abali nange. Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.’ ” Bwe yayogera bw'atyo n'afukamira n'asaba nabo bonna. Ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu kifuba Pawulo ne bamunywegera, nga banakuwala okusinga byonna olw'ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okutuuka ku kyombo. Awo olwatuuka bwe twamala okwawukana nabo ne tusaabala butereevu okutuuka e Koosi, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala. Bwe twasanga ekyombo nga kiwunguka okugenda e Foyiniiki, ne tusaabala ne tugenda. Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okutikkulira ebintu. Bwe twalabayo abayigirizwa ne tumalayo ennaku musanvu. Abo ne bagamba Pawulo mu Mwoyo aleme okulinnya mu Yerusaalemi. Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako wamu n'abakyala baabwe n'abaana baabwe, okutuuka ebweru w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja, ne tusaba; ne tusiibulagana, ne tusaabala mu kyombo, naye bo ne baddayo ewaabwe. Naffe bwe twava e Ttuulo ne tutuuka e Potolemaayi; ne tulamusa ab'oluganda ne tumala nabo olunaku lumu. Enkeera ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo, omubuulizi w'Enjiri, omu ku bali omusanvu, ne tubeera naye. Yalina abaana be abawala bana abaali batannafumbirwa nga boogera eby'obunnabbi. Bwe twalwayo ennaku nnyingi, e Buyudaaya n'evaayo omuntu nnabbi erinnya lye Agabo. N'ajja gyetuli n'addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'agamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga.” Bwe twawulira ebyo, ffe era n'abantu ab'omu kitundu ekyo ne tumwegayirira aleme okulinnya mu Yerusaalemi. Awo Pawulo n'alyoka addamu nti, “Mukola ki ekyo? Okukaaba n'okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu.” Bwe twalemwa okumukkirizisa ne tumuleka, ne tugamba nti, “Mukama waffe ky'ayagala kikolebwe.” Awo oluvannyuma lw'ennaku ezo ne tusitula emigugu gyaffe ne tulinnya e Yerusaalemi. Abamu ku bayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni ow'e Kupulo omu ku bayigirizwa abaasooka. Bwe twatuuka mu Yerusaalemi ab'oluganda ne batwaniriza n'essanyu lingi nnyo. Ku lunaku olwokubiri Pawulo wamu naffe ne tugenda ewa Yakobo; era n'abakadde bonna baaliwo. Bwe yamala okubalamusa n'ababuulira kinnakimu byonna Katonda bye yakola mu baamawanga mu kuweereza kwe. Nabo bwe baawulira ne bagulumiza Katonda; ne bamugamba nti, “ Olaba, ow'oluganda, abantu nkumi na nkumi abakkiriza mu Bayudaaya, nabo bonna bagala okukwata obutiribiri amateeka, abo babuulirwa ebigambo byo nti ggwe oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu b'amawanga okuleka amateeka ga Musa, baleme okukomolanga abaana baabwe newakubadde okutambuliranga mu mpisa z'Ekiyudaaya. Kale kiki ekiba kikolebwa? Awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze. Kale kola nga bwe tukugamba: tulina abasajja bana abali ku kirayiro; genda nabo otukuzibwe wamu nabo, obasasulire ensimbi ez'okumwa emitwe gyabwe. Kale bonna banaategeera ng'ebigambo bye baabuulirwa ku ggwe tebiriimu; naye nga naawe wennyini weegendereza ng'okwata amateeka. Naye ku nsonga z'Abamawanga abakkiriza, twabawandiikira nga tubagamba nti beekuumenga ebintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiddwa n'obwenzi.” Awo Pawulo n'atwala abasajja abo, ku lunaku olwaddirira n'atukuzibwa wamu nabo. N'ayingira mu Yeekaalu okutegeeza ennaku ez'okutukuza we ziriggweerako, olwo buli omu atwaleyo ekiweebwayo kye. Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okugwako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya abalaba Pawulo mu Yeekaalu ne basasamaza ekibiina kyonna ne bamukwata, nga boogerera waggulu nti, “Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye musajja agenda ayigiriza obubi mu buli kifo ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu Yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu.” Kubanga baali bamaze okulaba Tulofiimo Omwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bategeera nti Pawulo amuleese mu Yeekaalu. Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mangu, ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi. Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basserikale nti Yerusaalemi kyonna kyefuukudde. Amangwago n'atwala basserikale n'abaami n'aserengeta mangu gye baali. Awo bwe baalaba omwami omukulu n'abasserikale ne balekerawo okukuba Pawulo. Awo omukulu w'abaserikale n'alyoka asembera n'akwata Pawulo, n'alagira okumusibya enjegere bbiri; n'abuuza nti ye ani, ne ky'akoze ki. Abamu mu kibiina ne bamuddamu nga boogerera waggulu ng'abamu bagamba kino n'abalala nga bagamba kiri, n'atayinza kutegeera mazima olw'okuleekaana, n'alagira okumutwala mu nkambi. Bwe yatuuka ku madaala, n'alyoka asitulibwa abasserikale kubanga abantu baali bayitiridde obukambwe; kubanga ekibiina ky'abantu kyali kibagoberera nga boogerera waggulu nti, “Mumutte! Mumutte.” Awo Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu nkambi n'agamba omukulu w'abasserikale nti, “ Okkiriza mbeeko kye nkubuulira?” N'amuddamu nti, “ Omanyi Oluyonaani?” Si ggwe Mumisiri, mu nnaku eziyise eyajeemesa abantu, n'otwala abatemu enkumi ennya (4,000) mu ddungu? Naye Pawulo n'addamu nti, Nze ndi Muyudaaya, ow'omu kibuga Taluso eky'omu Kirukiya, omutuuze mu kibuga ekitannyoomebwa. Nkwegayiridde, nzikiriza njogere eri abantu. Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala n'awenya ku bantu, bwe baamala okusiriikira ddala, n'ayogera mu lulimi Olwebbulaniya ng'agamba nti: “Ab'oluganda n'abakadde, muwulirize ensonga gyembawoleza kaakano.” Bwe baawulira ng'abagambye mu lulimi Olwebbulaniya ne beeyongera okusirika: n'agamba nti: “Ndi Muyudaaya, nnazaalibwa mu kibuga Taluso eky'omu Kirukiya, naye ne nkulira mu kibuga kino Yerusaalemi, ne mbeera ne Gamalyeri, eyanjigiririza ddala empisa z'amateeka ga bajjajjaffe, ne nfubanga nnyo okuweereza Katonda nga nammwe bwe mukola leero. Ne njigganyanga abantu b'Ekkubo n'okubatta, nga mbasibanga era nga mbateekanga mu makomera abasajja n'abakazi; era ne kabona asinga obukulu ye mujulirwa wange ow'ebyo n'abakadde bonna: era nabo ne bampa ebbaluwa eri ab'oluganda, ne ntambula okugenda e Ddamasiko abo abaali eyo baleetebwe mu Yerusaalemi nga basibe babonerezebwe.” “Awo olwatuuka bwe nnali nga ntambula nga nnaatera okutuuka e Ddamasiko, nga mu ttuntu, amangwago omusana mungi ogwava mu ggulu ne gwaka ne gunneetooloola; ne ngwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’ Nze ne nziramu nti, Ggwe ani, Mukama wange? N'aŋŋamba nti, ‘Nze Yesu Omunazaaleesi gw'oyigganya ggwe.’ Abaali awamu nange ne balaba omusana, naye ne batawulira ddoboozi ly'oyo eyayogera nange. Ne ŋŋamba nti, Nnaakola ntya, Mukama wange? Mukama waffe n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka, ogende e Ddamasiko, onoobuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonna by'olagiddwa okukola.’ Bwe ssaayinza kulaba olw'ekitangaala eky'amaanyi eky'omusana guli, ne nkwatibwa ku mukono abo abaali nange ne ntuuka mu Ddamasiko.” “Omuntu omu erinnya lye Ananiya atya Katonda mu mateeka, eyasiimibwa Abayudaaya bonna abatuula eyo, n'ajja gye ndi n'ayimirira we ndi n'aŋŋamba nti, ‘Ow'oluganda Sawulo, zibula.’ Mu kiseera ekyo ne nzibula ne mulaba. N'agamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe yakulonda dda otegeere ebyo by'ayagala, era olabe Omutuukirivu oli, era owulire eddoboozi eriva mu kamwa ke. Kubanga onoobeeranga mujulirwa we eri abantu bonna ow'ebigambo by'olabye ne by'owulidde. Kale kaakano ekikulwisa ki? Golokoka, obatizibwe onaazibweko ebibi byo, nga weegayirira erinnya lye.’ ” “Awo olwatuuka bwe nnakomawo e Yerusaalemi, bwe nnali nga nsaba mu Yeekaalu, omwoyo gwange ne guwaanyisibwa ne mmulaba ng'aŋŋamba nti, ‘Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemi; kubanga tebalikkiriza kutegeeza kwo ku nze.’ Nange ne ŋŋamba nti, ‘Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti nze nnabateekanga mu makomera era nga nnabakubiranga mu buli kkuŋŋaaniro abakukkiriza: era n'omusaayi ogw'omujulirwa wo Suteefano bwe gwayiibwa, nange kennyini nnali nga nnyimiridde awo, nga nsiimye, nga nkuuma ebyambalo byabwe abaamutta.’ N'aŋŋamba nti, ‘Genda: kubanga nze ŋŋenda kukutuma wala mu b'amawanga.’” Ne bamuwuliriza okutuusa ku kigambo kino, ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bagamba nti, “Aggibwe mu nsi afaanana bw'atyo: kubanga si kirungi abeere mulamu.” Bwe baali nga boogerera waggulu era nga bakasuka engoye zaabwe, era nga bafuumuulira waggulu enfuufu, omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu nkambi, n'alagira okumukemereza nga bwakubibwa embooko, okutegeera ensonga gye bamulanze, ekireetedde ekibiina kyonna okwogerera waggulu ku ye bwe batyo. Bwe baali nga bamaze okumusibya enkoba, Pawulo n'agamba omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Kikkirizibwa mu mateeka okukuba omuntu Omuruumi nga tannaba kusalirwa musango?” Omusserikale bwe yawulira n'agenda eri omukulu waabwe n'amubuulira ng'agamba nti, “Ogenda kukola ki? Omusajja ono Muruumi.” Omukulu w'abasserikale n'agenda gy'ali, n'amugamba nti, “Mbuulira, ggwe oli Muruumi?” N'amuddamu nti, “ Yee, bwe ndi.” Omukulu w'abasserikale n'addamu nti, “Nze nnafuna Oburuumi nga mbusasulidde ensimbi nnyingi nnyo.” Pawulo n'amuddamu nti, “ Nze mmwe nnazaalirwa.” Awo amangwago abaali bagenda okumukemereza ne bamuleka, era n'omukulu w'abasserikale n'atya nnyo bwe yamala okutegeera nga Muruumi, kubanga yali alagidde okumusiba n'okumukuba embooko. Enkeera omukulu w'abasserikale bwe yayagala okumanya amazima ensonga Abayudaaya gye bamulanze okumuloopa, n'amusumulula n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna okukuŋŋaana, n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe. Pawulo n'atunuulira ab'olukiiko enkaliriza, n'agamba nti, “ Ab'oluganda, nze ntambulidde mu maaso ga Katonda n'obwegendereza okutuusiza ddala ku lunaku luno.” Ananiya, kabona asinga obukulu, n'alagira abo abamuyimiridde okumpi okumukuba oluyi ku ttama Pawulo n'alyoka amugamba nti, “Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?” Abaali bamuyimiridde okumpi ne bagamba nti, “Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda?” Pawulo n'agamba nti, “Mbadde simumanyi, ab'oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti, ‘ toyogeranga bubi ku mukulu w'abantu bo.’ ” Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu ky'Abasaddukaayo n'eky'okubiri ky'Abafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti, “ Ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo, mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu.” Bwe yayogera bw'atyo ne wabaawo okuyomba wakati w'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo, ekibiina ne kyawukanamu. Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newakubadde bamalayika, newakubadde omwoyo, naye Abafalisaayo ebyo byonna babikkirizza. Ne wabaawo okukaayana kungi: abawandiisi abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bayimirira ne bawakana nga bagamba nti, “Tetulaba kibi ku muntu ono: era kinaaba kitya oba omwoyo oba nga malayika yayogera naye?” Bwe waabaawo okuyomba okungi, omukulu w'abasserikale n'atya ng'alaba Pawulo baagala kumuyuzayuzamu, n'alagira ekitongole okukka wansi okumuggya wakati mu bo n'amaanyi bamutwale mu nkambi. Awo mu kiro eky'okubiri, Mukama waffe n'ayimirira w'ali n'agamba nti, “Guma omwoyo: kubanga nga bw'onjulidde wano mu Yerusaalemi, era kikugwanidde n'okunjulira bw'otyo ne Ruumi.” Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamo nga bagamba nti, tebajja kulya newakubadde okunywa wabula nga bamaze kutta Pawulo. Abeekobaana bwe batyo ne basukka ana (40). Abo ne bajja eri bakabona abakulu n'abakadde ne bagamba nti, “ Twerayiridde obutakomba ku kantu konna wabula nga tumaze kutta Pawulo. Kale kaakano mmwe n'olukiiko mugambe omukulu w'abasserikale amuleete wansi gye muli ng'abaagala okwongera okumanya amazima g'ebigambo bye, naffe, tunnamutta nga tanatuusibwa eyo.” Naye mutabani wa mwannyina wa Pawulo n'awulira olukwe luno, n'ajja n'ayingira mu nkambi, n'abuulira Pawulo. Pawulo n'ayita omu ku basserikale n'amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuserikale omukulu, kubanga alina ekigambo kyayagala okumubuulira.” Awo oli n'amutwala n'amuleeta eri omukulu w'abaserikale n'agamba nti Pawulo omusibe yampise n'anneegayirira okukuleetera omulenzi ono, ng'alina ky'agenda okukubuulira. Omukulu w'abaserikale n'amukwata ku mukono ne yeeyawula mu kyama n'amubuuza nti, “Bigambo ki by'olina okumbuulira?” N'amugamba nti, “Abayudaaya bateesezza okukwegayirira okuleeta Pawulo enkya wansi mu lukiiko ng'agenda okwongera okumubuuza amazima g'ebigambo bye. Kale ggwe tobakkiriza: kubanga abantu baabwe nga ana (40) bamuteeze nga berayiridde obutalya newakubadde okunywa ekintu kyonna wabula nga bamaze okumutta; nabo kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe okukkiriza.” Awo omukulu w'abaserikale n'asiibula omulenzi, bwe yamala okumukuutira nti, “ Tobuulirako omuntu nti ombuulidde ebigambo bino.” Awo n'ayita babiri ku basserikale abaduumizi n'abagamba nti, Mutegeke abasserikale bibiri (200), n'abeebagala embalaasi nsanvu (70), n'ab'amafumu bibiri (200) bagende e Kayisaliya, mu ssaawa ey'okusatu ey'ekiro; era mutegekewo n'embalaasi Pawulo gyanagenderako bamutwale mirembe okumutuusa eri Ferikisi owessaza. N'awandiika ebbaluwa ku nsonga eno nti: “Kulawudiyo Lusiya eri Ow'ekitiibwa owessaza Ferikisi, nkulamusizza. Omusajja ono yakwatibwa Abayudaaya, bwe baali bagenda okumutta, ne ŋŋenda n'abasserikale gye baali ne mbamuggyako, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. Era bwe nnayagala okutegeera ensonga gye bamulanze okumuloopa, ne mmutwala mu lukiiko lwabwe. Ne ndaba ng'aloopeddwa bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga tewali nsonga ya kumussa newakubadde okusibibwa. Bwe bambuulira nti waliwo olukwe olw'okumutta, kwe kusalawo amangwago okumuweereza gy'oli; era ne ndagira abamuloopa okuleeta ensonga zaabwe gy'oli.” Awo basserikale nga bwe baalagirwa ne batwala Pawulo mu kiro ne batuuka mu Antipatuli. Enkeera ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda ne Pawulo okutuuka e Kayisaliya, abalala ne baddayo mu nkambi. Abo bwe baatuuka e Kayisaliya ne bawa ebbaluwa owessaza era ne bamwanjulira Pawulo. Bwe yamala okugisoma, n'abuuza essaza gye yava; bwe yabuulirwa nti yava mu Kirukiya, n'agamba nti, “ Ndikuwuliriza abakuloopa bwe baliba bazze.” N'alagira okumukuumira mu lubiri lwa Kerode. Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, kabona asinga obukulu n'atuuka e Kayisaliya ng'ali wamu n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi erinnya lye Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo ebivunaanibwa Pawulo. Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n'atandika okumuloopa ng'agamba nti: “Oweekitibwa Ferikisi, tufunye emirembe mingi eri ggwe, n'ebintu bingi ebirongooseddwa mu ggwanga lino olw'obufuzi bwo obulungi. Mu ngeri zonna era ne mu bifo byonna tubikkiriza n'okwebaza kwonna. Naye saagala kwongera kukukooya, nkwegayiridde mu kisa kyo, otuweeyo akaseera katono owulirize ensonga zaffe. Tulabye omusajja ono nga wamutawaana nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, ate era ye mukulu w'ekibiina ky'Abanazaaleesi. Yagezaako okwonoona Yeekaalu: ne tumukwata, era twali tugenda omusalira omusango ng'amateeka gaffe bwe gali: naye Lusiya, omukulu w'abaserikale n'ajja n'atumuggyako n'amaanyi mangi, n'alagira abamuvunaana okujja gy'oli. Bw'onoomwebuuliza wekka onooyinza okutegeera bino byonna bye tumuvunaana.” Era n'Abayudaaya abalala ne bongereza kw'ebyo, nga bagamba nti bwe bityo bwe biri. Awo owessaza bwe yawenya ku Pawulo okwogera, Pawulo n'addamu nti: “Kubanga mmanyi ng'osaze emisango gye ggwanga lino okumala emyaka mingi, ŋŋenda okuwoza n'omwoyo omugumu. kubanga oyinza okutegeera ng'ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nzijja mu Yerusaalemi okusinza, abo tebansanganga mu Yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesa ekibiina newakubadde mu kkuŋŋaaniro newakubadde mu kibuga. So tebayinza kukakasa w'oli ebigambo bye banvunaana kaakano. Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita Enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi; nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu. Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu ennaku zonna. Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo: bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu Yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano, abo basaanye babeere wano mu maaso go bannumirize oba nga balina ekigambo ku nze. Oba bano boogere bennyini ekibi kye baalaba bwe nnayimirira mu lukiiko mpozzi kino kyokka kye n'ayogera nti, ‘ Olw'okubanga nzikiririza mu kuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango mu maaso gammwe ku lunaku luno.’ ” Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawo ng'agamba nti, “Lusiya, omukulu w'abasserikale bwalijja ne ndyoka nsala omusango gwammwe.” N'alagira omwami n'okumuzaayo mu kkomera naye ng'amulekedde eddembe, n'obutaziyiza muntu yenna ku mikwano gye okumuweereza. Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n'ajja ne mukazi we Dulusira, Omuyudaaya, n'atumya Pawulo ne bamuwuliriza ku bigambo eby'okukkiriza Kristo Yesu. Bwe yali ng'ategeeza eby'obutuukirivu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n'ebbanga, ndikuyita. Era yali asuubira Pawulo okumuwa sente, kyeyavanga amutumyanga emirundi mingi naanyumyanga naye. Naye bwe waayitawo emyaka ebiri, Ferikisi n'asikirwa Polukiyo Fesuto. Ferikisi olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe mu kkomera. Awo Fesuto bwe yatuuka mu ssaza, bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ava mu Kayisaliya n'agenda e Yerusaalemi. Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamubuulira bye bavunaana Pawulo; ne bamwegayirira, abayambe atumye Pawulo aleetebwe e Yerusaalemi, nga bateekateeka okumuteegera mu kkubo okumutta. Naye Fesuto n'addamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, nga naye ye yennyini yali ateekateeka okugendayo amangu ddala. N'agamba nti, “Kale abakulu mu mmwe bagende nange, bamuvunaane oyo oba ng'aliko ekibi kyonna kyonna.” Oluvannyuma lw'ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olwokubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo. Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy'amaanyi okumuvunaana, kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu ku gyo. Pawulo n'awoza nti, “Siyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya newakubadde ku Yeekaalu newakubadde eri Kayisaali.” Naye Fesuto, olw'okwagala okusanyusa Abayudaaya, n'abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange?” Naye Pawulo n'agamba nti, “Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi. Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulidde eri Kayisaali.” Fesuto bwe yamala okuteesa nabo mu lukiiko n'alyoka addamu nti, “ Nga bw'ojulidde ewa Kayisaali, kale oligenda ewa Kayisaali.” Awo bwe waayitawo ennaku, kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya, okwaniriza Fesuto. Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti, “Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe: bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango. Ne mbaddamu nti, ‘Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana.’ Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olwokubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo. Bwe baayimirira abamuvunaana ne bataleeta nsonga ya bigambo bibi nga bwe nnali ndowooza; naye baalina ku ye ebibuuzibwa mu ddiini yaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafa, Pawulo gwe yayogerako okuba omulamu. Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino. Naye Pawulo bwe yajulira okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusa lwe ndimuweereza eri Kayisaali.” Agulipa n'agamba Fesuto nti, “Nnandyagadde nange okuwulira omuntu oyo.” N'agamba nti, “Enkya onoomuwulira.” Awo ku lunaku olwokubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa. Fesuto n'agamba nti, “ Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate. Naye nze ne ntegeera nga takoze kigambo ekisaanidde okumussa: naye ye bwe yajulira Augusito ne nsalawo okumuweerezaayo. Sirina kigambo ku ye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta we muli, era okusinga w'oli, ggwe kabaka Agulipa, bwe tunaamala okumukemereza ndyoke mbeere n'ekigambo eky'okuwandiika. Kubanga ndaba nga tekisaana kuweereza omusibe nga tolaze nsonga zimuvunaanibwa.” Agulipa n'agamba Pawulo nti, “ Okkirizibwa okuwoza ensonga zo.” Awo Pawulo n'alyoka agolola omukono n'awoza nti: “Bye nnavunaanibwa Abayudaaya byonna, kabaka Agulipa, nneesiimye kubanga ŋŋenda okubiwoza leero w'oli; era okusinga kubanga omanyi empisa n'ebibuuzibwa byonna ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiikirize okumpuliriza. Kale empisa zange okuva mu buto ezaasooka okubeeranga mu ggwanga lyaffe ne mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonna bazimanyi; abantegeera okusooka edda, singa baagala okutegeeza, bwe nneegenderezanga mu kitundu ekisinga obuzibu eky'eddiini yaffe, ne mbeera Mufalisaayo. Kaakano nnyimiridde okusalirwa omusango olw'essuubi Katonda lye yasuubiza bajjajjaffe; lye basuubira okutuukako ebika byaffe ekkumi n'ebibiri, nga banyiikira okuweerezanga Katonda emisana n'ekiro: olw'essuubi eryo, kabaka, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira. Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu? Mazima nze nalowoozanga nzekka nga kiŋŋwanidde okukolanga obubi ebigambo bingi ku linnya lya Yesu Omunazaaleesi. N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi: nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta. Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuuka mu bibuga eby'ebweru. Awo bwe nnali nga ŋŋenda e Ddamasiko nga nnina obuyinza n'okulagirwa okwava eri bakabona abakulu, mu ttuntu, kabaka, ne ndaba mu kkubo omusana ogwava mu ggulu ogusinga okwaka kw'enjuba ne gumasamasa ne gunneetooloola n'abaali batambula nange. Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda.’ Nze ne ŋŋamba nti,‘ Ggwe ani, Mukama wange?’ Mukama waffe n'agamba nti, ‘ Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe. Naye golokoka, oyimirire ku bigere byo: kyenvudde nkulabikira, nkulonde obeerenga omuweereza era omujulirwa w'ebyo mw'ondabidde era ow'ebyo mwe nnaakulabikiranga, nga nkuwonya mu bantu ne mu b'amawanga, nze gye nkutuma okuzibula amaaso gaabwe, bakyuke okuva mu kizikiza badde eri omusana n'okuva mu buyinza bwa Setaani badde eri Katonda, balyoke baweebwe okuggyibwako ebibi n'obusika mu abo abaatukuzibwa olw'okukkiriza nze.’ Kale, kabaka Agulipa, saalema kugondera okwolesebwa okw'omu ggulu: naye nnasooka okubuulira ab'omu Ddamasiko ne mu Yerusaalemi, era n'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolanga ebikolwa ebisaanidde okwenenya. Abayudaaya kyebaava bankwata mu Yeekaalu ne bagezaako okunzita. Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja; bwe kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era ye bw'alisooka mu kuzuukira kw'abafu okubuulira omusana abantu n'ab'amawanga.” Bwe yawoza bw'atyo Fesuto n'agamba n'eddoboozi ddene nti, “Olaluse, Pawulo: okusoma okwo okungi kukufudde omulalu!” Naye Pawulo n'agamba nti, “ Siraluse, Fesuto omulungi ennyo, naye njogera ebigambo eby'amazima n'eby'obuntu bulamu. Kubanga kabaka amanyi ebigambo bino, gwe njogerera mu maaso ge n'obugumu. Kubanga mmanyi ebigambo bino tebyekwese eri kabaka n'ekimu; kubanga ekyo tekyakolebwa mu bubba. Okkiriza bannabbi, kabaka Agulipa? Mmanyi ng'okkiriza.” Agulipa n'agamba Pawulo nti, “ Mu kaseera kano akatono olowooza kunfuula Omukristaayo! Pawulo n'addamu nti, Nsaba Katonda, mu kaseera katono, oba mu kiseera kinene, si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.” Awo Kabaka n'owessaza ne Berenike n'abaali batudde awamu nabo ne basituka ne bafuluma. Bwe baddayo eka, ne boogera bokka na bokka nga bagamba nti, “Omuntu ono takoze ekisaanidde okumussa oba okumusibya.” Agulipa n'agamba Fesuto nti, “Omuntu ono yanditeereddwa singa teyajulira Kayisaali.” Awo bwe kyasalibwawo ffe tusaabale ku nnyanja okugenda e Italiya, Pawulo n'abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu, ow'ekitongole kya Augusito, erinnya lye Yuliyo. Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyali kigenda ku njuyi z'e Asiya, ne tuvaayo, nga ne Alisutaluuko Omukedoni ow'e Ssessaloniika ali naffe. Ku lunaku olwokubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola bulungi Pawulo n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira. Ne tuvaayo ne tusaabala nga tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuli bubi. Bwe twayita mu nnyanja ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; ne tutuuka e Mula eky'e Lukiya. Eyo omukulu w'ekitongole n'alabayo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kigenda Italiya, n'atusaabaza mu ekyo. Twasaabala mpola olw'omuyaga omungi okumala ennaku nnyingi ne tutuuka lwa mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobera, ne tuyita ku mabbali ga Kuleete mu maaso ga Salumone; ne tukiyitako lwa mpaka ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi; awaliraanye ekibuga Lasaya. Bwe waayitawo ebbanga ddene, nga n'obudde bweyongera kwonoonekera ddala, nga okusaabala ku nnyanja kyakabi, nga ne nnaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula ng'abagamba nti, “Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe.” Naye omukulu w'ekitongole n'agendera ku magezi g'omugoba w'ekyombo ne nnannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera. Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abasinga obungi kyebaava basemba eky'okweyongerayo, oba nga kisoboka tutuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba. Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete. Naye waali tewanayita bbanga ddene, omuyaga ogw'amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta, ekyombo bwe kyakwatibwa ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga. Ne tweyuna mu mabbali g'akazinga akayitibwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato: bwe baamala okulirinnyisa, ne baddira emigwa egy'okunyweza ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe baatya okusuulibwa mu Suluti, ne bassa ebyali waggulu, ne batwalibwa omuyaga. Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olwokubiri ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo. Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja. Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba newakubadde emmunyeenye, gwo omuyaga nga gweyongera maanyi, era essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu. Bwe baamala ekiseera ekiwanvu nga tebalidde, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti, “ Kyabagwanira, abasajja, okumpuliriza obutava mu Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n'okulumizibwa! Era kaakano mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabe mu mmwe anaafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo. Kubanga mu kiro, malayika wa Katonda wange gw'empeereza, yayimiridde we ndi, ng'agamba nti, ‘Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira mu maaso ga Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe.’ Kale mugume emyoyo, abasajja; kubanga nzikiriza Katonda nga kiriba nga bwe yaŋŋambye. Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.” Naye ekiro eky'ekkumi n'ebina (14) bwe kyatuuka, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti banaatera okusemberera olukalu; ne bagera ne balaba ebifuba abiri (20) bwe twagendako katono, ne bagera nate, ne balaba ebifuba kkumi na bitaano (15). Bwe baatya okuseerera awali amayinja, ne basuula amasika ana (4) ku kiwenda ne balindirira bukye. Abalunnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa akaato ku nnyanja nga beefuula ng'abagenda okusuula ennanga mu maaso g'ekyombo. Pawulo n'agamba omukulu w'abasserikale n'abasserikale be nti, “Abasajja bano bwe batasigala mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka.” Awo abasserikale ne basala emigwa gy'akaato ne bakaleka ne kagenda. Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya (14) nga mulindirira nga temulya kantu konna, Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu.” Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atandika okulya. Bonna ne baguma emyoyo, ne balya ku mmere. Fenna abaali mu kyombo twali abantu bibiri mu nsanvu mu mukaaga (276). Bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo. Bwe bwakya enkya, nga tebamanyi gyebali: naye ne balaba ekikono ekiriko omusenyu; ne bateesa, oba nga kiyinzika, okuseeza omwo ekyombo. Ne bakutula amasika, ne bagaleka mu nnyanja, mu kiseera ekyo bwe baasumulula emigwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga eri mu maaso eri empewo ne boolekera ku ttale. Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri (2) we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibukuka n'amaanyi g'amayengo. Abasserikale ne bateesa abasibe battibwe baleme okuwugirira okudduka. Naye kubanga omukulu w'abasserikale yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye baali bateesezza. Awo n'alagira abasobola okuwuga bawuge batuuke ku lukalu. Abo abaali tebasobola kuwuga ne bagezaako okweyambisa ebitundutundu by'embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku lukalu bulungi. Bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera ng'ekizinga kiyitibwa Merita. Abantu b'okukizinga ekyo baatulaga ekisa ekitali kya bulijjo, kubanga baakuma omuliro, ne batusembeza fenna, nga ne mpewo nnyingi ate nga n'enkuba yali etandise okutonnya. Naye Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku, n'agussa mu muliro, embalasaasa n'evaamu olw'ebbugumu n'emwerippa ku mukono. Abantu b'okukizinga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti, “ Mazima omuntu ono mussi; newakubadde awonye okufiira mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu.” Naye n'akunkumulira mu muliro ekyekulula n'atabaako kabi. Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti, “ katonda.” Waaliwo kumpi n'ekifo ekyo ensuku z'omuntu omukulu w'ekizinga, erinnya lye Pubuliyo; oyo n'atusembeza n'atujjanjaba n'ekisa ennaku ssatu. Awo kitaawe wa Pubuliyo yali agalamidde, ng'alwadde omusujja n'ekiddukano ky'omusaayi: Pawulo n'ayingira mw'ali, n'asaba n'amussaako emikono n'amuwonya. Ekyo bwe kyakolebwa, abalala nabo abaali ku kizinga abaalina endwadde ne bajja ne bawonyezebwa: era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twali tuvaayo ne baleeta ku kyombo ebintu bye twetaaga. Oluvannyuma lw'emyezi esatu ne tusitula, twaviirayo mu kyombo eky'e Alegezanderiya, ekyali ku kizinga mu biro eby'omuyaga, akabonero kaakyo Ab'oluganda abalongo. Ne tugoba mu Sulakusa ne tumalayo ennaku ssatu: ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe waayitawo olunaku lumu, empewo ez'omuggundu ne zikunta, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Putiyooli; gye twasanga ab'oluganda ne batuyita okumala wamu nabo ennaku musanvu: awo bwe tutyo ne tutuuka e Ruumi Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo. Bwe twayingira mu Ruumi, Pawulo n'akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng'alina omusserikale amukuuma. Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti, “Ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi: abo bwe baamala okunkemereza ne baagala okunsumulula, kubanga tewaali nsonga gye ndi ya kunzisa. Naye Abayudaaya bwe baagaana, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, si ng'alina ekigambo okuloopa eggwanga lyaffe. Kale olw'ensonga eyo mbayise okundaba n'okwogera nange: kubanga olw'essuubi lya Isiraeri nsibiddwa n'olujegere luno.” Bo ne bamugamba nti, “ Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe. Naye twagala okuwulira okuva gy'oli by'olowooza: kubanga enzikiriza eno, tumanyi nti bagiwakanya wonna wonna.” Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okuva ku makya okutuusa akawungeezi. Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. Awo bwe balemwa okukwatagana ne bagenda, nga Pawulo amaze okwogera ekigambo kino nti, “ Omwoyo Omutukuvu yagamba bulungi bajjajjammwe mu kitabo kya nnabbi Isaaya ng'agamba nti,” “ ‘Genda eri abantu bano, oyogere nti Okuwulira muliwulira, ne mutategeera; Okulaba muliraba, ne muteetegeereza Kubanga omutima gw'abantu bano gusavuwadde, N'amatu gaabwe bawulira bubi, N'amaaso gaabwe bagazibye; Baleme okulaba n'amaaso, N'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omutima gwabwe, N'okukyuka, Nze okubawonya. ’ ” “Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezeddwa ab'amawanga, nabo balibuwulira.” Bwe yayogera ebigambo ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka. Awo Pawulo n'amalayo emyaka ebiri miramba ng'asula mu nnyumba gye yeepangisiza, n'asembezanga bonna abajjanga gy'ali, ng'abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era ng'ayigirizanga mu lwatu ebigambo bya Mukama Yesu Kristo, nga tewali amuziyiza. Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, eyayitibwa okuba omutume, ne njawulibwa okubunyisa Enjiri ya Katonda, gye yasuubiriza edda mu bannabbi be, ne mu byawandiikibwa ebitukuvu. Enjiri ekwata ku Mwana we, eyazaalibwa mu zzadde lya Dawudi mu mubiri, eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, ne mu mwoyo gw'obutukuvu, n'olw'okuzuukira kwe mu bafu; Yesu Kristo Mukama waffe, okuyita mu ye mwe twafunira ekisa n'obutume, tuleete obugonvu bw'okukkiriza olw'erinnya lye mu mawanga gonna, era nammwe muli mu bo, abayitibwa okuba aba Yesu Kristo; eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu, ekisa kibe nammwe n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi zonna. Kubanga Katonda ye mujulirwa, gw'empeereza mu mwoyo gwange, mu njiri y'Omwana we, bw'entyo buli kiseera mboogerako bulijjo mu ssaala zange, nga nneegayirira bulijjo mu kusaba kwange, Katonda bw'ayagala, ndyoke ntambuzibwe bulungi okujja gye muli. Kubanga neegomba okubalabako, ndyoke mbawe ku kirabo eky'Omwoyo, mulyoke munywezebwe, olwo fenna tuzibwemu amaanyi olw'okukkiriza kwaffe, okwammwe n'okwange. Era, ab'oluganda, njagala mumanye ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli, naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke mbeereko n'ebibibala by'enfuna mu mmwe, era nga ne mu b'amawanga amalala. Nnina obuvunanyizibwa okuyamba Abayonaani era ne bannamawanga, ab'amagezi era n'abasirusiru. Era kyenva njagala okubabuulira Enjiri nammwe abali mu Ruumi. Kubanga Enjiri tenkwasa nsonyi; kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli akkiriza, okusookera ku Muyudaaya era n'Omuyonaani. Kubanga mu Njiri Obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuuka mu kukkiriza; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.” Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna, n'obutaba na butuukirivu bwonna obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu; kubanga ebiyinza okumanyika ebya Katonda bimanyika birabika gyebali; kubanga Katonda yabibalaga. Kubanga okuviira ddala ku kutonda ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda, bwe batyo babeere nga tebalina kya kuwoza; kubanga newakubadde nga Katonda baamumanya, naye tebamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, wabula ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala, ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebinyonyi, n'eky'ebisolo, n'eky'ebyewalula. Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka, kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga era ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi; kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa, era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe. Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana; nga bajjudde obutaba na butuukirivu bwonna, obubi, okwegomba, ettima; nga bajjudde obuggya, obussi, okuyomba, obukuusa, enge; abageya, abalyolyoma, abakyawa Katonda, ab'ekyejo, ab'amalala, abeenyumiriza, abayiiya ebigambo ebibi, abatawulira bazadde baabwe, abatalina magezi, abaleka endagaano, abataagalana, abatalina kusaasira: era newakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango, era nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola. Kyova olema okubeera n'eky'okuwoza, ggwe omuntu, kyonna kyoli, bw'osalira omulala omusango; kubanga mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga; kuba bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala. Tumanyi nga ensala ya Katonda mu mazima etuukira ddala ku abo abakola bwe batyo. Olowooza ggwe omuntu, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, so nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala? Oba ekisa kya Katonda ekingi n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, byonyoomye? Tomanyi nga ekisa kya Katonda weekiri olw'okukuleetera okwenenya? Naye olw'obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu, obutuukirivu bwa Katonda obw'okusala omusango kwe bulibikkulirwa; alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali; abo mu kugumiikiriza abanyiikira okukola ebirungi nga baluubirira okufuna ekitiibwa n'ettendo n'obutafa, alibasasula obulamu obutaggwaawo. Naye abo abayomba, n'abatagondera mazima, naye bagoberera obutali butuukirivu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira. Walibaawo okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa, ku buli muntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani, naye ekitiibwa n'ettendo n'emirembe, biribeera ku buli akola obulungi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani, kubanga Katonda tasosola mu bantu. Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balizikirizibwa nga tebavunaanibwa mateeka, ate bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu mateeka; kubanga abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, wabula abo abakola amateeka bye galagira be baliweebwa obutuukirivu. Kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu kutegeera okw'obuzaaliranwa bwabwe, ne batuukiriza ebyo amateeka bye galagira, abo, be baba bafuuse amateeka aga bafuga, newakubadde nga tebalina amateeka gali. Balaga nti amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe gukikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza; ku lunaku olwo, okusinziira ku njiri yange, Katonda asala omusango gw'ebyama by'abantu ku bwa Yesu Kristo. Naye ggwe bw'oyitibwa Omuyudaaya, ne weesigama ku mateeka, ne weenyumiririza mu Katonda, n'omanya Katonda by'ayagala, n'osiima ebisinga obulungi, kubanga wayigirizibwa mu mateeka, era bw'oba weekakasa ggwe okubeera omusaale w'abazibe b'amaaso, omusana gw'abali mu kizikiza, omulagirizi w'abatalina magezi, Omuyigiriza w'abaana abato, kubanga tulina mu mateeka, ebisibiddwamu eby'amagezi n'eby'amazima; kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki teweeyigiriza wekka? Abuulira obutabbanga, obba? Agamba abalala obutayendanga, oyenda? Akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa? Eyeenyumiririza mu mateeka, onyooma Katonda ng'osobya amateeka? Kubanga erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b'amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa. Kubanga okukomolebwa kugasa, bw'okwata amateeka; naye bw'oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kuba kufuuse obutakomolebwa. Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu mateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kuba kukomolebwa? Era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, talikusalira musango ggwe, asobya amateeka, newakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu mateeka era nga wakomolebwa? Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu si ye Muyudaaya; so n'okukomolebwa kw'omubiri okw'okungulu si kwe kukomolebwa, naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n'okukomolebwa kwe okw'omu mutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda. Kale Omuyudaaya kiki ky'asinza abalala? Oba okukomolebwa kugasa ki? Kugasa nnyo mu bigambo byonna, eky'olubereberye kubanga Abayudaaya baateresebwa ebyo Katonda bye yayogera. Kubanga kiba ki abamu bwe bataba na kukkiriza, obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda? Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Obeere mutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango.” Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda si mutuukirivu bw'atubonereza n'obusungu? Njogera ng'abantu bwe boogera. Nedda n'akatono! Kubanga, bwe kiba bwe kityo, Katonda alisalira atya ensi omusango? Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okulabika olw'obulimba bwange ye n'aweebwa ekitiibwa, nze kiki ekinsaliza omusango nate ng'omwonoonyi? Era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti, “Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje?” Abo okusalirwa kwabwe omusango kwa nsonga. Kale kiki? Ffe Abayudaaya tulina kyetusinza abalala? Nedda, n'akatono. Kubanga tusoose okulaga nti Abayudaaya era n'Abayonaani bonna bafugibwa kibi, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Tewali mutuukirivu n'omu; Tewali ategeera, Tewali anoonya Katonda; Bonna baakyama, baafuuka batasaana wamu; Tewali akola obulungi, tewali n'omu; Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Balimba n'ennimi zaabwe; Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi w'emimwa gyabwe: Akamwa kaabwe kajjudde okukolima n'okukaawa: Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi; Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe; So tebamanyanga kkubo lya mirembe. Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe.” Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda. Kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge, kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi. Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka ne bannabbi, bulabisibwa; bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo; kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda; naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw'okununulibwa okuli mu Kristo Yesu. Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza; okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino, alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu buli akkiriza Yesu. Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Tekuuliwo. Lwaki tekuuliwo? Tekuuliwo olw'ebikolwa? Nedda, naye lwa kukkiriza. Kyetuva tukakasa ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza sso si lwa kutuukiriza bikolwa bya mu mateeka. Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya bokka? Si Katonda wa b'amawanga n'abo? Weewaawo, era n'aba mawanga n'abo waabwe. Olw'okuba Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza. Kale amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza? Nedda, nakatono. Naye tuganyweza bunyweza. Kale kiki kye tunaayogera ku Ibulayimu jjajjaffe kye yalaba mu mubiri? Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda. Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu. Kale, omukozi empeera ye temuweebwa ng'ekirabo, naye ng'ekyo kyateekwa okuweebwa. Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu. Era ne Dawudi alangirira omukisa ku muntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti, “Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe, Ebibi byabwe byabikkibwako. Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.” Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ne ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu. Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? Si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa: n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu. Era ye jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa. Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu obw'okukkiriza. Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo. Kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona. Kale ebyo Katonda bye yasuubiza bisinzira mu kukkiriza, okusuubiza kulyoke kubeerenga kwa kisa, era kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna. Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w'amawanga amangi,” mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo. Ibulayimu yakkiriza n'asuubira awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti, “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.” N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe nga gulinga ogufudde, kubanga yali awezezza emyaka nga kikumi (100), era nga ne Saala mugumba. Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda, era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola. Era kyekwava kumubalirwa okuba obutuukirivu. Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “kwamubalirwa;” naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu, eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu. Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe ne Katonda mu Mukama waffe Yesu Kristo. Mu ye mwe twayita okufuna ekisa kino kye tuyimiriddemu; era tusanyuka mu kusuubira kwe tulina okw'okugabana ku kitiibwa kya Katonda. So si ekyo kyokka, era naye twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng'okubonaabona kuleeta okugumiikiriza; nate okugumiikiriza kuleeta empisa ennungi; n'empisa ennungi zireeta okusuubira: n'okusuubira tekukwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, mu Mwoyo Omutukuvu gwe twaweebwa. Bwe twali nga tukyali banafu, mu kiseera ekituufu Kristo naafiirira abatatya Katonda. Kizibu omuntu okufiirira omuntu omutuukirivu; oboolyawo mpozzi omuntu aguma okufiirira omuntu omulungi. Naye Katonda alaga okwagala kwe ye gyetuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira. Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw'omusaayi gwe, okusinga ennyo alitulokola okutuggya mu busungu bwa Katonda. Kuba oba nga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, kaakano nga bwe tutabaganyiziddwa tulirokoka olw'obulamu bwe. Era si ekyo kyokka, era naye tusanyukira mu Katonda mu Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana okwo. N'olwekyo ng'ekibi bwe kyajja mu nsi olw'omuntu omu, era n'okufa ne kuyingira olw'okwonoona, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona. Kituufu ekibi kyaliwo mu nsi nga amateeka teganaweebwa, naye ekibi tekibalibwa, awatali mateeka. Kyokka okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja. Naye ekirabo eky'obuwa tekifaanana kwonoona. Kuba oba nga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, kisinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo eky'obuwa mu kisa ky'omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna mu bangi. Era ekirabo eky'obuwa tekifaanana n'ekyava mu kwonoona kw'omuntu omu, kubanga omusango ogwava mu kibi ekimu kwaleeta okusingibwa omusango, naye ekirabo eky'obuwa ekiva mu kwonoona okungi kireeta okuggyibwako omusango. Kuba oba nga olw'okwonoona kw'omu okufa kwafuga ku bw'omu, okusinga ennyo abo abaweebwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obuwa eky'obutuukirivu balifugira mu bulamu ku bw'oyo omu Yesu Kristo. Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omusango bwe gwasinga abantu bonna, bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu. Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafuuka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu. Amateeka gajja, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira, ekisa ne kisinga okusukkirira. Era ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, era n'ekisa kya Katonda bwe kityo bwe kifugira mu butuukirivu ne kituweesa obulamu obutaggwaawo, mu Yesu Kristo Mukama waffe. Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga? Nedda n'akatono! Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate? Temumanyi nti ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, era twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe? Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya. Kuba oba nga twagattibwa wamu naye mu kufa kwe, era tuligattibwa wamu naye ne mu kuzuukira kwe. Tumanyi nti omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi. Kubanga afudde aba takyafugibwa kibi. Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye. Tumanyi nti nga Kristo bwe yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga. Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu, naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda. Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. Kale ekibi kiremenga okufuga mu mubiri gwammwe ogufa, ne mugondera okwegomba kwagwo. Temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubikozesa obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubeeranga eby'okukozesa obutuukirivu eri Katonda. Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa. Kale tukole tutya? Tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa? Nedda n'akatono! Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu, muba baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ob'okuwulira okuleeta obutuukirivu? Naye Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa. Kale bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, mwafuuka baddu b'obutuukirivu. Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe, kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba abaddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byammwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa. Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri obutuukirivu. Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? Kubanga enkomerero yaabyo kufa. Naye kaakano bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutaggwaawo. Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo eky'obuwa ekya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe. Oba temumanyi, ab'oluganda kubanga ŋŋamba abategeera amateeka, ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu? Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba. Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi, naye bba bw'afa, nga asumuluddwa eri amateeka, era bw'afumbirwa omusajja omulala olwo aba si mwenzi. Bwe kityo, ab'oluganda, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala. Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe ne kubaliranga okufa ebibala. Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, tuleme okuweerereza mu nnukuta ez'edda, naye tuweerereze mu bulamu obuggya obw'Omwoyo. Kale tunaayogera tutya? Amateeka kye kibi? Nedda, n'akatono. Naye ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka, kubanga ssandimanye kwegomba, singa amateeka tegaayogera nti Teweegombanga: naye ekibi bwe kyalaba omukisa mu mateeka, kyaleeta mu nze okwegomba okwengeri zonna. Kubanga awataba mateeka ekibi nga kifudde. Nange edda nnabanga mulamu awatali mateeka, naye ekiragiro bwe kyajja, okwonoona ne kuzuukira, nange ne nfa; n'ekiragiro ekyali eky'okuleeta obulamu, ekyo ne kirabika gye ndi nga eky'okuleeta okufa: kubanga ekibi, bwe kyalaba we kisinziira olw'ekiragiro, ne kinnimba, era olw'ekiragiro ne kinzita. Bwe kityo amateeka matukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kya mazima era kirungi. Kale ekirungi kyaleeta okufa gye ndi? Nedda n'akatono! Kyali kibi ekyaleeta okufa mu nze nga kuyita mu kirungi, mu ngeri nti ekibi ekyo kirabisibwe okuba ekibi, era okuyita mu kiragiro nfuuke omwonoonyi ddala. Kubanga tumanyi ng'amateeka ga mwoyo; naye nze ndi wa mubiri, natundibwa okufugibwanga ekibi. Kubanga kye nkola, ssikimanyi; kubanga kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola. Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, nzikiriza nga amateeka amalungi. Kale kaakano si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze. Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi; mpulira nga njagala okukola ekirungi, naye nga sisobola. Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola, naye kye ssaagala ekibi kye nkola. Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze. Bwe kityo ndaba etteeka nti, nze bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi. Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omunda, naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n'etteeka ly'amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w'etteeka ly'ekibi eriri mu bitundu byange. Nze nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno? Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi. Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu. Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe ne linziggya mu tteeka ery'ekibi n'ery'okufa. Kubanga Katonda yakola amateeka kye gatayinza kukola, kubanga manafu olw'omubiri, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi, alyoke asalire omusango ekibi mu mubiri. Obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula abagoberera Omwoyo. Kubanga abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri, naye abagoberera Omwoyo, bagoberera bya Mwoyo. Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'Omwoyo bwe bulamu n'emirembe. kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tegufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegaguyinza: n'abo abali mu mubiri tebayinza kusanyusa Katonda. Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu Mwoyo, bwaba nga ddala Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe. Naye oba nga Kristo ali mu mmwe, emibiri gyammwe ne bwe gifa olw'ekibi; emyoyo gyammwe giba miramu olw'obutuukirivu. Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe. Kale nno, ab'oluganda, tulina ebbanja: omubiri si gwe gutubanja, okugobereranga omubiri, kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa; naye bwe munaafiisanga ebikolwa by'omubiri olw'Omwoyo, muliba balamu. Kubanga bonna abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda. Kubanga temwaweebwa nate Mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, gwe tuukoowoola nti, “Aba! Kitaffe!” Omwoyo yennyini wamu n'Omwoyo gwaffe ategeeza nga tuli baana ba Katonda. Nga bwe tuli abaana, era tuli basika, abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa. Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati, tekwenkanankana na kitiibwa ekigenda okutubikkulirwa. Kubanga ebitonde byonna bitunuula nga byesunga okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda. Kubanga ebitonde biringa ebitalina mugaso, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyayagala bibeere bwe bityo mu kusuubira. Kubanga era n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda. Tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano. Era si bitonde byokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe. Kubanga twalokoka lwa kusuubira, naye ekisuubirwa ekirabika si kusuubira, kubanga ani asuubira ky'alabako? Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n'okugumiikiriza. Era bwe kityo Omwoyo atubeera mu bunafu bwaffe; kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n'okusinda okutayogerekeka; naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala. Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi. Kubanga abo bonna be yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi. Era abo be yayawula edda, abo era yabayita, era be yayita, yabawa obutuukirivu, era be yawa obutuukirivu, ekitiibwa. Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe y'ani? Ataagaana Mwana we ye, naye n'amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye? Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu; ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza. Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? Kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala? Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.” Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala. Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe. Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange ye mujulirwa mu Mwoyo Omutukuvu, nga nnina ennaku nnyingi n'okulumwa okutamala mu mutima gwange. Kubanga nnandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri. Aba Isiraeri; abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuweebwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa; abalina bajjajjaabo, era omwava Kristo mu mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna. Amiina. Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo. Kubanga abava mu Isiraeri, si be Baisiraeri bonna, so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebaava babeera abaana bonna; naye, “Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.” Kwe kugamba nti, abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde. Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti, “Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana.” Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe, kubanga nga tebannazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita, n'agambibwa nti, “Omukulu aliba muddu wa muto.” Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo n'amwagala, naye Essawu n'amukyawa.” Kale tunaayogera tutya? Obutali butuukirivu buli eri Katonda? Nedda, n'akatono. Kubanga agamba Musa nti, “Ndisaasira gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirwa ekisa.” Kale bwe kityo si lwa kwagala kwa muntu oba okufuba kwe, naye lwa kusaasira kwa Katonda. Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti, “Kyenvudde nkulekawo ggwe, ndyoke nkulage amaanyi gange, era erinnya lyange liryoke libuulirwenga mu nsi zonna.” Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza. Kale onoŋŋamba nti, “Katonda kiki ekimunnenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala?” Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awakana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti, “Kiki ekyakumumbisa bw'oti?” Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole ekimu okubumba mu ekibya eky'ekitiibwa, ne mu kirala ekitali kya kitiibwa? Kale kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira, alyoke amanyise obugagga obw'ekitiibwa kye ku bibya eby'okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa, ebibya ebyo ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu b'amawanga? Era nga bw'ayogera mu Koseya nti, “Abataali abantu bange, ‘ndibayita abantu bange;’ Era n'oyo ataayagalwa, ndimuyita, ‘ayagaliddwa.’ ” “Awo mu kifo kye baagambirwamu nti, ‘Mmwe temuli bantu bange,’ Mwe baliyitirwa, ‘abaana ba Katonda omulamu.’ ” Era Isaaya ayogerera waggulu ebya Isiraeri nti, “Newakubadde Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, naye kitundu butundu kye kirirokoka; kubanga Mukama alikola ekigambo kye ku nsi, ng'akituukiriza era ng'akisalako.” Era nga Isaaya bwe yasooka okwogera nti, “Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde, Twandibadde nga Sodomu, era twandifaananye nga Ggomola.” Kale tunaayogera tutya? Nti ab'amawanga, abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza; naye Isiraeri, mu kugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali. Lwa ki? Kubanga tebaabugobereranga nga basinziira mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olulibasuula; Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.” Ab'oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke. Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera. Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda. Kubanga Kristo ye nkomerero y'amateeka, olw'okuweesa obutuukirivu buli akkiriza. Kubanga Musa awandiika nti, omuntu akola obutuukirivu obuva mu mateeka aliba mulamu mu bwo. Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti, Toyogeranga mu mutima gwo nti, “Ani alirinnya mu ggulu?” Okwo kwe kuleeta Kristo wansi; newakubadde nti, “Ani alikka emagombe?” Okwo kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu. Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwa ko, ne mu mutima gwo, kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira; kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka. Kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke okulokoka. Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti, “Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi.” Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani; Mukama waabwe bonna ye omu, era awa obugagga eri abo bonna abamukaabirira. Kubanga, buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. Naye balikoowoola batya gwe batannakkiriza? Era balikkiriza batya gwe batannawulirako? Era baliwulira batya awatali abuulira? Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebigere byabwe nga birungi abo abaleeta ebigambo ebirungi!” Naye bonna tebaagondera Njiri. Kubanga Isaaya ayogera nti, “Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?” Kale okukkiriza kuva mw'ekyo ekiwuliddwa, n'ekiwuliddwa kiva mu kubuulira Kristo. Naye mbuuza, Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, baawulira Kubanga, “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabwe okutuuka ku nkomerero z'ensi.” Era nate mbuuza, Isiraeri tategeeranga? Musa ye yasooka okwogera nti, “Ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga,” Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza. Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti, “Navumbulibwa abo abatannoonyanga,” Nneeraga eri abo abatambuulirizangako. Naye eri Isiraeri ayogera nti, “Obudde okuziba nnagololera emikono gyange abantu abajeemu era abatawulira.” Kale mbuuza, Katonda yeegaana abantu be? Nedda! n'akatono. Nange kennyini ndi Muisiraeri, wa mu zzadde lya Ibulayimu, wa mu kika kya Benyamini. Katonda tagaananga bantu be be yamanya edda. Oba temumanyi ebyawandiikibwa ku Eriya bwe byogera, ku ngeri gye yasaba Katonda ku Baisiraeri? “Mukama, basse bannabbi bo, ne baazikiriza ebyoto byo, era nze nsigaddewo nzekka, era banoonya obulamu bwange.” Naye Katonda yamuddamu nti, “Nze nneekumidde abasajja kasanvu (7,000), abatafukaamiriranga Baali.” Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo abaalondebwa olw'ekisa. Naye bwe kibanga lwa kisa, olwo kiba nti si lwa bikolwa; kuba olwo ekisa kiba tekikyali kisa nate. Kale tukole tutya? Isiraeri yalemwa okufuna kye yali anoonya, abaalondebwa baakiraba, ate abalala ne bakakanyazibwa, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawulira, okutuusa ku lunaku lwa leero.” Era Dawudi ayogera nti, Emmeeza yaabwe ebafuukire akakunizo n'ekigu, N'enkonge, n'empeera gyebali; Amaaso gaabwe gasiikirizibwe obutalaba, Era obakutamyenga emigongo gyabwe emirembe gyonna. Kambuuze, Baamala kwesittala ne balyoka bagwa? Nedda, nakatono. Naye olw'okwonoona kwabwe obulokozi kyebwava bujja eri ab'amawanga, aba Isiraeri bakwatibwe obuggya. Naye oba ng'okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga bw'ansi, n'okulemwa kwabwe kutegeeza bugagga eri ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekulisinga nnyo? Kaakano njogera nammwe ab'amawanga. Kale kubanga nze ndi mutume wa b'amawanga, ngulumiza okuweereza kwange, ndyoke nkwase Bayudaaya bannange obuggya, bwentyo ndokole abamu mu bo. Kuba oba ng'okuganibwa kwabwe kutegeeza kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kutegeeza ki, okuggyako obulamu okuva mu bafu? Era ebibala ebibereberye bwe biba ebitukuvu, era n'ekitole kiba kitukuvu; era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, era n'amatabi gaba matukuvu. Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwako, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, n'osimbibwa mu kifo kyago, ogabane ku bugagga obw'omuzeyituuni; teweenyumiririzanga ku matabi ago. Bw'oba weenyumiriza, jjukira nti si ggwe owanirira ekikolo, naye ekikolo kye kiwanirira ggwe. Kale onooyogera nti, “Amatabi gaawogolwako nze nsobole okusimbibwako.” Weewaawo; gaawogolwako lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga. Kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira. Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda, eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe, naye bw'otoobeererenga mu bwo, naawe oliwogolwako. Era nabo, bwe bataaliremera mu butakkiriza bwabwe baliyungibwa ku kikolo, kubanga Katonda ayinza okubayungako nate. Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa, tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo? Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri, okutuusa ab'amawanga lwe balituuka ku kutuukirira kwonna; era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Omununuzi aliva mu Sayuuni; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo.” “Era eno ye ndagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.” Okusinziira mu Njiri, be balabe ba Katonda ku lwammwe; naye okusinziira mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajjaabwe. Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa. Era nga mmwe edda bwe mwali abajeemu eri Katonda, naye kaakati musaasiddwa olw'obujeemu bwabwe. Bwe batyo nabo kaakati bajeemu, balyoke basaasirwe nga mmwe bwe mwasaasirwa. Kubanga Katonda yasiba abantu bonna mu bujeemu, alyoke asaasire bonna. Obuziba bw'obugagga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika! “Kubanga ani eyali ategedde ebirowoozo bya Mukama? Oba ani eyali amuwadde amagezi?” “Oba ani eyali amuwadde ekirabo alyoke amuddizewo?” Kubanga byonna biva gy'ali, era biyita gy'ali, era bituuka gy'ali. Ekitiibwa kibeerenga gy'ali emirembe gyonna. Amiina. Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mutegeere ebyo Katonda by'ayagala, ebirungi, ebisanyusa era ebituufu. Olw'ekisa kye nnaweebwa, mbeegayirira buli omu ku mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza. Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu, bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka. Era bwe tulina ebirabo ebitenkanankana ng'ekisa kye twaweebwa bwe kiri, tubikozesenga bwe tutyo, oba bunnabbi, tubuulirenga mu kigera ky'okukkiriza kwaffe; oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe. Abuulirira, anyiikirenga mu kubuulirira kwe; agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; n'oyo asaasira, asaasirenga n'essanyu. Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, munywererenga ku kirungi. Mwagalanenga n'okwagala okw'ab'oluganda; nga musukirira mu kuwaŋŋana ekitiibwa. Mubeere banyiikivu si bagayaavu; nga muli basanyufu mu mwoyo; nga muweereza Mukama waffe. Musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba. Mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi. Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga, so temukolimanga. Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba. Mubeerenga mu mirembe mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mukolaganenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka. Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga okukola ebirungi mu maaso g'abantu bonna. Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna. Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu; kubanga kyawandiikibwa nti, “Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.” Naye “omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, muwenga eky'okunywa; kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.” Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi. Buli muntu awulirenga abakulu abafuga, kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baateekebwawo Katonda. Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda, era ababawakanya balyereetaako omusango bo bokka. Kubanga abafuga si ba kutiisa abo abakola ebirungi, wabula abo abakola ebibi. Era oyagala obutatya mukulu? Kola bulungi, alikusiima, kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira bwereere kitala; kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu bwe ku oyo akola obubi. Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa kwewala busungu bwa Katonda bwokka, naye era ne ku lw'omwoyo gwammwe. Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo. Musasulenga bonna amabanja gaabwe, ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; n'ab'ekitiibwa kitiibwa. Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka. Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti, “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” Okwagala tekukola bubi muntu munne; okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka. Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo; kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga we twakkiririza. Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, kale twambule ebikolwa eby'ekizikiza, era twambale eby'okulwanyisa eby'omusana. Tutambulenga nga tuwoomye nga abali mu musana, si mu binyumu ne mu mbaga ez'okutamiiranga, si mu bwenzi n'obukaba, si mu kuyombanga n'obuggya. Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba. Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye temumusalira musango olw'ensonga ezibuusibwabuusibwa. Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna, naye atali munywevu alya nva zokka. Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya, kubanga Katonda yamusembeza. Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? Eri mukama we yokka gyayinza okuyimiririra oba okugwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza. Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka. Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe; n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda. Kubanga tewali muntu mu ffe eyeebeerera omulamu ku bubwe yekka, era tewali eyeefiira ku bubwe yekka. Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe; oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe, kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe. Kubanga Kristo kyeyava afa n'abeera omulamu, alyoke abeerenga Mukama w'abafu era n'abalamu. Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? Oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? Kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulitendereza Katonda.” Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda. Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka, naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba enkonge. Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kintu kya muzizo mu buwangwa bwakyo; wabula eri oyo akirowooza nga kya muzizo, kiba kya muzizo. Kuba oba nga muganda wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira. Kale ekirungi kyammwe kiremenga okuvumibwa, kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima. Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka. Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala. Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesittazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya. Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'akakasa. Naye oyo abuusabuusa azza omusango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi. Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka. Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba. Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka; naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti, “Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.” Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, bwe tutyo mu kugumiikiriza n'olw'okuzibwamu amaanyi ebyawandiikibwa tubeerenga ne ssuubi. Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu, mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'eddoboozi limu. Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda. Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja, era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Kyenaavanga nkutendereza mu b'amawanga, Era nnaayimbanga ku linnya lyo.” Era nate ayogera nti, “Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be.” Era nate nti, “Mutenderezenga Mukama, mmwe ab'amawanga mwenna; Era ebika byonna bimutenderezenga.” Era nate Isaaya ayogera nti, “Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Mu ye mwe mulibeera essuubi ly'ab'amawanga.” Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu. Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragananga mwekka na mwekka. Naye nneeyongedde okuguma katono okubawandiikira, nga mbajjukiza nate, olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda, nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga mpereeza mu bwa kabona Enjiri ya Katonda, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'etukuzibwa Omwoyo Omutukuvu. Kale okwenyumiriza ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda. Kubanga siryaŋŋaanga kwogera kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'amawanga, mu kigambo ne mu kikolwa, mu maanyi g'obubonero n'eby'amagero, mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, n'abuulira Enjiri ya Kristo. Bwentyo nduubirira okubuuliranga Enjiri, awo erinnya lya Kristo we litayogerwangako, nnemenga okuzimba ku musingi gw'omuntu omulala; naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye,” Era abatamuwulirangako balitegeera. Era kyennavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye muli: naye kaakati, kubanga sikyalina kitundu kya kukoleramu mu nsi zino, era kubanga okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli, nsuubira okubalabako nga ŋŋenda mu Esupaniya, era n'okunyamba mu lugendo olwo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe. Naye kaakati ŋŋenda e Yerusaalemi, okutwalira abatukuvu obuyambi. Kubanga ab'e Makedoni n'ab'e Akaya baasiima okuwaayo ebintu eri abaavu ab'omu batukuvu abali e Yerusaalemi. Baasiima okukikola; era ddala balina ebbanja gyebali, kuba oba ng'ab'amawanga bagabana ku mikisa gy'Abayudaaya egy'omwoyo, nabo basaana okugabana nabo ebintu eby'omubiri. Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwasiza ddala ebyo ebyampeebwa, ndivaayo, ne mpitira ewammwe okugenda e Supaniya. Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli ndijja n'omukisa gwa Kristo nga gutuukiridde. Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda; ndyoke mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu. Olw'okwagala kwa Katonda, ndyoke njije gye muli n'essanyu, mpummulire wamu nammwe. Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina. Mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, omuweereza w'ekkanisa ey'omu Kenkereya, mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga okuva gye muli, kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini. Munnamusize Pulisika ne Akula abaakolera awamu nange mu Kristo Yesu, abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga. Munnamusize ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo. Mulamuse Malyamu, eyabakolera mmwe emirimu emingi. Mulamuse Anduloniiko ne Yuniya, ab'ekika kyange, era abaasibirwa awamu nange, ab'amaanyi mu batume, era abansooka okubeera mu Kristo. Mulamuse Ampuliyaato, gwe njagala mu Mukama waffe. Mulamuse Ulubano, akolera awamu naffe mu Kristo, ne Sutaku gwe njagala. Mulamuse Apere akkirizibwa mu Kristo. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Alisutobulo. Mulamuse Kerodiyoni, ow'ekika kyange. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Nalukiso, abali mu Mukama waffe. Mulamuse Terufayina ne Terufoosa abaakola emirimu mu Mukama waffe. Mulamuse Perusi omwagalwa, eyakola emirimu emingi mu Mukama waffe. Mulamuse Luufo, eyalondebwa mu Mukama waffe, ne nnyina, ye mmange. Mulamuse Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n'ab'oluganda abali awamu nabo. Mulamuse Firologo ne Yuliya, Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa, n'abatukuvu bonna abali awamu nabo. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo zibalamusizza. Era mbeegayiridde, ab'oluganda, mutunuulirenga abo abaleeta eby'okwawukanya n'eby'okwesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga, mubeewalenga abo. Kubanga abaliŋŋanga abo si baddu ba Mukama waffe Kristo, naye ba mbuto zaabwe bokka; era n'ebigambo ebirungi n'eby'okunyumya obulungi balimbalimba emitima gy'abo abatalina kabi. Kubanga newakubadde obuwulize bwammwe bumanyiddwa bonna, ekindetera okubasanyukira mmwe; naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mw'ebyo ebirungi, naye abeewala ebyo ebibi. Era Katonda ow'emirembe alibetenta Setaani wansi w'ebigere byammwe mangu. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe. Timoseewo, akolera awamu nange, abalamusizza; ne Lukiyo ne Yasooni ne Sosipateri, ab'ekika kyange. Nze Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe. Gayo, ansuza nze n'ekkanisa yonna, abalamusizza. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abalamusizza, ne Kwaluto, ow'oluganda. Ekisa kya Mukama waffe Kristo Yesu kibeerenga nammwe mwenna. Amiina. Era oyo ayinza okubanyweza ng'Enjiri n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe, naye kaakati kirabise ne kitegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza. Katonda ow'amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa mu Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo. Amiina. Pawulo, eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw'okwagala kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda, eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw'ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu; kubanga mu buli kigambo mwagaggawalira mu ye, mu kwogera kwonna ne mu kutegeera kwonna; ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezebwa mu mmwe: mmwe obutaweebuuka mu kirabo kyonna; nga mulindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo; era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, obutabaako kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo. Katonda mwesigwa, eyabayita okuyingira mu kusseekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe. Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganye mwekka na mwekka, okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mube n'omutima gumu n'okulowooza kumu. Kubanga nnabuulirwa ebifa gye muli, baganda bange, abo ab'omu nnyumba ya Kuloowe, ng'eriyo ennyombo mu mmwe. Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti, “Nze ndi wa Pawulo;” “nange wa Apolo;” “nange wa Keefa;” “nange wa Kristo.” Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku lwammwe? Oba mwabatizibwa okuyingira mu linnya lya Pawulo? Nneebaza Katonda kubanga sibatizanga muntu yenna mu mmwe, wabula Kulisupo ne Gaayo; omuntu yenna alemenga okwogera nga mwabatizibwa okuyingira mu linnya lyange. Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana, nate simanyi nga nnabatiza omuntu omulala yenna. Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaba gwa Kristo gulemenga okuba ogw'obwereere. Kubanga ekigambo eky'omusalaba bwe busirusiru eri abo abazikirira; naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibuggyawo.” Kale Omugezi aluwa? Omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi ow'omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag'ensi eno okuba obusirusiru? Kubanga Katonda mu magezi ge, yalaba ng'ensi teyinza kumumanya ng'eyita amagezi gaayo, Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirisiru bw'okubuulira Enjiri okulokola abo abakkiriza. Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani banoonya amagezi: naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru; naye eri abo abayite Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda. Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi. Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi; naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, akwase abagezigezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ab'amaanyi ensonyi, n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo; waleme kubaawo muntu yenna eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gyetuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu, n'okutukuzibwa, n'okununulibwa: nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.” Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda. Kubanga nnasalawo obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi. Era mu kwogera kwange ne mu kubuulira kwange tebyali mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, naye byali mu kulaga okw'Omwoyo n'amaanyi; okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda. Naye eri abo abakuze mu mwoyo, twogera eby'amagezi, naye amagezi agatali ga mu mulembe guno, oba ag'abafuzi ab'omu mulembe guno abaggwaawo. naye twogera amagezi ga Katonda ag'ekyama, agali gakwekeddwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe. Tewali n'omu ku bafuzi ab'omu mulembe guno abaagategeera, kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama ow'ekitiibwa. naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.” Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda. Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? Era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda. Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa. N'okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo. Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda, kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo. Naye omuntu ow'Omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna. Kubanga, “ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize?” Naye ffe tulina endowooza ya Kristo. Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo. Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza; naye era ne kaakano temunnagiyinza; kubanga mukyali ba mubiri, kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu? Kubanga omuntu bw'ayogera nti, “Nze ndi wa Pawulo;” n'omulala nti, “Nze ndi wa Apolo;” nga temuli bantu buntu? Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa. Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza. Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza. Naye asiga n'afukirira benkanankana, naye buli muntu aliweebwa empeera okusinziira ku mulimu gw'aliba yakola. Kubanga ffe tukolera wamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda. Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omuzimbi omukugu ow'amagezi n'asima omusingi, naye kaakano omulala aguzimbako. Naye buli muntu yeegenderezenga bw'aguzimbako. Kubanga tewali muntu ayinza kuteekawo musingi mulala wabula ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro; omulimu ogwa buli muntu gulirabibwa, kubanga ku lunaku luli omuliro guligwolesa, n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana. Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulisigalawo, aliweebwa empeera. Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro. Temumanyi nga muli Yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe? Omuntu yenna bw'azikirizanga Yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe. Omuntu yenna teyeerimbanga. Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi. Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” Era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu. Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe; oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe; nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda. Omuntu asaanidde atutwalenga ng'abaweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda. Era kigwanira abawanika okubanga abeesigwa. Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange nzekka sseesalira musango. Kubanga sseemanyiiko kigambo; naye ekyo tekimpeesa butuukirivu: naye ansalira omusango ye Mukama waffe. Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda. Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala. Kubanga akwawula ye ani? Era olina ki ky'otaaweebwa? Naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa? Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe, era mubeera kufuga nnandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe. Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatuteeka ku nkomerero ng'abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuuka ekyerolerwa eri ensi, eri ba bamalayika n'eri abantu. Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa. Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe; era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaffe, abatuvuma, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza; bwe tuwaayirizibwa, twegayirira; twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi, empitambi eza byonna, okutuusa kaakano. Bino ssibiwandiika kubaswaza, wabula lwa kubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa. Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza mitwalo mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze n'afuuka kitammwe mu Kristo Yesu olw'Enjiri. Kyenva mbeegayirira mulabire ku nze. Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesigwa mu Mukama waffe, anaabajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa. Naye waliwo abalala abeegulumiza nga balowooza nga nze sigenda kujja gye muli. Naye ndijja gye muli mangu, Mukama waffe bw'alyagala; era ndimanya amaanyi gaabwe abeegulumiza so si mu bigambo obugambo. Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi. Mwagalako ki? Njije gye muli n'omuggo, oba mu kwagala ne mu mwoyo ogw'obuwombeefu? Ddala kigambibwa nti mulimu obwenzi mu mmwe, ate obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawanga; omuntu okubeera ne muka kitaawe. Nammwe mwegulumizizza! So temwandinakuwadde bunakuwazi? Oyo eyakola ekikolwa ekyo mu muggye wakati mu mmwe. Newakubadde siri nammwe mu mubiri, ndi nammwe mu mwoyo, mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona bw'atyo. Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye nange nga ndi nammwe mu mwoyo n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe, mumuweeyo omuntu ng'oyo eri Setaani omubiri guzikirizibwe, omwoyo gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? Muggyemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga Kristo, y'endiga y'Okuyitako kwaffe eyattibwa. Kale tufumbe embaga, eteriimu kizimbulukusa eky'edda, eky'ettima n'obubi, wabula tulye omugaati ogutalimu kizimbulukusa, ogwo bwesimbu n'amazima. Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi; so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi, kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi. Naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye. Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Naye abo ab'omu nnyumba si be musaana okusalira omusango? Naye ab'ebweru Katonda y'abasalira omusango. Omubi oyo mu muggye mu mmwe. Omuntu yenna mu mmwe bw'aba n'ensonga ku munne, ayaŋŋaanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu? Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale oba nga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga entono eziri mu mmwe? Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? Tulemwa tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno? Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, lwaki mugitwala eri abo abanyoomebwa mu kkanisa? Njogera kino kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga, naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza? Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda. Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali ng'abo, era mwanaazibwa, era mwatukuzibwa, era mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe. “Ebintu byonna birungi gye ndi,” naye byonna tebingasa. “Byonna birungi gye ndi,” naye nze sigenda kufugibwanga kintu kyonna. “Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya,” naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri. Era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge. Temumanyi ng'emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo! Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? Kubanga ayogera nti, “Bombi banaafuuka omubiri gumu.” Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo. Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye. Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye Yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? Nammwe temuli ku bwammwe; kubanga mwagulibwa na muwendo, kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe. Kaakano ku ebyo bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne bba. Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira ng'omufumbo, era n'omukazi asasulenga bw'atyo bba. Kubanga omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula bba, era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we. Buli omu alemenga okumma munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe. Naye ekyo nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya, so siteeka tteeka. Naye nnandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye ye, ekiva eri Katonda, omulala kino, n'omulala kiri. Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze. Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbirwenga: kubanga kye kirungi okufumbirwa okusinga okwakanga. Naye abaamala okufumbiriganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, omukazi obutanobanga ku bba. naye singa anoba, abeereraawo obutafumbirwa, oba si bwe kityo atabaganenga ne bba; n'omusajja tagobanga mukazi we. Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe, ow'oluganda yenna bw'abanga n'omukazi atakkiriza, omukazi nakkiriza okubeera naye, tamugobanga. N'omukazi bw'abeeranga ne bba atali mukkiriza, naye bba nakkiriza okubeera naye, tamunobangako. Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi we, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na bba, singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu. Naye atakkiriza bw'ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo, kubanga Katonda yatuyitira mirembe. Kubanga, ggwe omukazi, omanyi otya nga tolirokola balo? Oba, ggwe omusajja, omanyi otya nga tolirokola mukazi wo? Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Ekyo ky'ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna. Omuntu yenna yayitibwa nga mukomole? Teyeggyangako bukomole bwe. Omuntu yenna yayitibwa nga si mukomole? Tanoonyanga kukomolebwa. Okukomolwa si kintu, n'obutakomolwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwatanga ebiragiro bya Katonda. Buli muntu abeerenga mu kuyitibwa kwe yayitirwamu. Wayitibwa ng'oli muddu? Tokyeraliikiriranga, naye bwewabaawo omukisa ogw'okufuna eddembe, gukozese togufiirwa. Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwanga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe, bw'atyo eyayitibwanga wa ddembe afuuka muddu wa Kristo. Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu b'abantu. Ab'oluganda, buli muntu abeerenga mu mbeera gye yalimu, agibeeremu wamu ne Katonda. Naye ku bikwata ku butafumbiriganwa, sirina kiragiro kya Mukama waffe, naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa. Nze ndowooza nga ekirungi olw'okubonaabona okwa kaakano, omuntu okubeera nga bw'ali. Wasibibwa n'omukazi? Tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? Tonoonyanga mukazi. Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'emitawaana gy'ensi gye nnandyagadde mwewale. Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okuva kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina: era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n'abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina; n'abo abakozesa eby'omu nsi babe ng'abatabikozesa, kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo. Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe; naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we. Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo; naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga bba. Njogedde ekyo olw'okubagasa mmwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga. Naye omusajja bw'alowoozanga nti taakole bulungi obutawasa omuwala gw'ayogereza, ate nga tayinza kweziyiza, akolenga nga bw'ayagala, bafumbiriganwe, aba tayonoonye. Naye oyo alina omutima omunywevu, n'asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa aba asazeewo bulungi. Kale oyo awasa omuwala gw'ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y'aba asinze okukola obulungi. Omukazi omufumbo asibibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw'ayagala, kyokka mu Mukama waffe. Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali, nga nze bwe ndowooza, era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda. Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga “tulina fenna okutegeera.” Okutegeera kuleeta okwekulumbaza, naye okwagala kuzimba. Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, aba tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera; naye omuntu bw'ayagala Katonda, amanyibwa Katonda. Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi nti “ng'ekifaananyi si kintu mu nsi,” era nga“ tewali Katonda mulala wabula omu.” Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo“ bakatonda” abangi “n'abaami” abangi; naye gyetuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe. Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ekiweereddwa eri ekifaananyi, kubanga omwoyo gwabwe munafu, gusigala mu kwonoona. Naye eky'okulya tekitusiimisa eri Katonda, era bwe tutalya tetulina kye tusubwa, era bwe tulya tetulina kyetweyongerako. Naye mwekuumenga eddembe lyammwe lireme okufuuka enkonge eri abanafu. Kubanga omuntu omunafu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi olya, omwoyo gwe bwe guba omunafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi? Kale ow'oluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, abula olw'okutegeera kwo. Era bwe kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda, era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo. Kale, oba ng'eky'okulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange. Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? mmwe temuli mulimu gwange mu Mukama waffe? Oba nga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe; kubanga mmwe kabonero k'obutume bwange mu Mukama waffe. Bwe mpoza bwe ntyo eri abo abankemereza. Tetulina buyinza okulyanga n'okunywanga? Tetulina buyinza okutwalanga omukazi ow'oluganda awamu naffe, era ng'abatume abalala, ne baganda ba Mukama waffe, ne Keefa bwe bakola? Oba Balunabba nange, ffe ffekka tetulina buyinza kulekeraawo kukola kweyimirizaawo? Ani akola ogw'obusirikale n'aba nga yeesasula empeera? Ani asimba olusuku n'atalya ku mmere yaamu? Oba ani alunda ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo? Ebyo mbyogera ku bwange? Etteeka si bwe lyogera? Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Togisibanga kamwa ente ng'ewuula.” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka? Oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako. Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri? Oba nga abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetusinga bo? Naye tetwakoza buyinza obwo; naye tugumiikiriza byonna, tulemenga okuleeta ekiziyiza Enjiri ya Kristo. Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu Yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto? Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira Enjiri baliisibwenga olw'Enjiri. Naye nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssiwandiika bino biryoke binkolerwe, kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere. Kubanga bwe mbuulira Enjiri, ekyo tekinneenyumiririzisa, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Ziba zinsanze, bwe ssibuulira njiri. Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera, naye ne bwe mba nga ssikola na kwagala, nkikola lwa kubanga nnateresebwa omulimu ogwo. Kale mpeera ki gye nnina? Empeera yange y'eno, kwe kubuulira Enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukozesa ddala obuyinza bwange mu Njiri. Kuba newakubadde nga ndi wa ddembe eri bonna, nneefuula muddu eri bonna, ndyoke nfunenga abangi. N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka; eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka. Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu. Era nkola byonna olw'Enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo. Temumanyi ng'abadduka mu mbiro mu mpaka nga bonna badduka, naye afuna ekirabo abeera omu? Nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuweebwa ekirabo. Buli muzanyi asaayo omwoyo okwefuga mu byonna nga alubirira okufuna engule eryonooneka, naye ffe tulifuna etayonooneka. N'olwekyo ssidduka ng'atalina kigendererwa; nnwana naye si ng'akuba ebbanga. Naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga; mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa. Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja; era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja; era bonna ne balyanga emmere emu ey'omwoyo; era bonna ne banywanga eky'okunywa ekimu eky'omwoyo: kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo yali Kristo. Naye bangi ku bo Katonda teyabasiima, kubanga baazikiririzibwa mu ddungu. Naye ebyo byali byakulabirako gyetuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba. So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.” Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa ku lunaku olumu abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Era tetukemanga Mukama waffe, ng'abamu ku bo bwe baakema, emisota egyo ne gibatta. Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza. Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe. Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa. Tewali kukemebwa okubatuukako okutali kw'abantu; naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza. Kale, baganda bange, muddukenga okusinza ebifaananyi. Mbagamba ng'abalina amagezi; mulowooze kye njogera. Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu okw'omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu okw'omubiri gwa Kristo? Kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu, kubanga fenna tugabana omugaati gumu. Mulabe Isiraeri ow'omubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na kyoto? Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Ekiweebwa eri ekifaananyi kintu, oba ekifaananyi kintu? Nedda. kye ntegeeza kye kino nti ab'amawanga bye bawaayo bawa eri baddayimooni so si eri Katonda, nange ssaagala mmwe okubeeranga abasseekimu ne baddayimooni. Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya baddayimooni. Tusaanye okunyiiza Mukama waffe? Ffe tumusinga amaanyi? “Byonna birungi;” naye ebisaana si byonna. “ Byonna birungi,” naye ebizimba si byonna. Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, afengayo ne ku bya munne. Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo; kubanga“ ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo.” Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo. Naye omuntu bw'abagambanga nti, “Kino kyaweereddwayo” okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oyo ababuulidde, n'olw'omwoyo, bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala? Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza? Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda. Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda. Era nga nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa bonna mu byonna, nga sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi, balyoke balokoke. Mundabireko, nga nze bwe ndabira ku Kristo. Mbatendereza kubanga munjijukira mu byonna, era munyweza bye mwaweebwa nga bwe nnabibawa. Naye njagala mmwe mutegeere ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n'omutwe gwa Kristo ye Katonda. Buli musajja bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikkiddwako, aswaza omutwe gwe. Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza bba, kubanga aba ng'amwereddwa. Oba nga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale asalengako enviiri ze, naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwako enviiri oba okuzimwako, agubikkengako. Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkanga ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye kye kitiibwa ky'omusajja. Kubanga omusajja teyava mu mukazi; wabula omukazi ye yava mu musajja. Era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja. Kyekiva kigwanira omukazi okubangako akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika. Kyokka mu Mukama waffe, omukazi tabaawo awatali musajja, era n'omusajja tabaawo awatali mukazi, kubanga ng'omukazi nga bwe yava mu musajja, era n'omusajja bw'atyo azaalibwa omukazi; naye byonna biva eri Katonda. Kale nammwe musaalewo, oba nga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe? Obuzaaliranwa bwokka tebubayigiriza nga omusajja bw'akuza enviiri zimuswaza? Naye omukazi bw'akuza enviiri, kye kitiibwa gy'ali: kubanga yaweebwa enviiri ze mu kifo ky'ekyambalo. Naye omuntu yenna bw'aba ng'ayagala okuleeta empaka, ffe tetulina mpisa ng'eyo, newakubadde ekkanisa za Katonda. Naye mu bino bye ŋŋenda okubagamba temuli kya kubatendereza, kubanga bwe mukuŋŋaana ebivaamu biba bibi, si birungi. Kubanga ekisookera ddala, bwe mukuŋŋaanira mu kkanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu mmwe, era nzikiriza nga kiyinza okuba nga kiri bwe kityo. Kubanga era n'okwesalamu kikugwanira okubaawo, abasiimibwa balyoke balabikenga mu mmwe. Bwe mukuŋŋaana, ekyo kye mulya kiba tekikyali mmere ya Mukama waffe: kubanga bwe muba mulya buli muntu alya ku lulwe, talinda banne, omu asigala akyali muyala, ate omulala ng'atamidde. Kiki ekyo? Temulina nnyumba ze muyinza kuliiramu n'okunyweramu? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abatalina kintu? Nnaabagamba ntya? Nnaabatendereza olw'ekyo? Ssibatendereza. Kubanga Mukama kye yampa, kye nnabayigiriza nti: Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati; ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agamba nti, “ Mutoole, mulye; guno gwe Mubiri gwange oguweereddwayo ku lwammwe, mukolenga bwe mutyo olw'okunjijukiranga nze.” Era n'eku kikompe bw'atyo, bwe baamala okulya, n'agamba nti, “ Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaankinywangako, olw'okunjijukiranga nze.” Kubanga buli lwe munaalyanga ku mugaati guno ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw'alijja. Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati oba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde. Naye omuntu yeekeberenga yekka alyoke alyenga ku mugaati bw'atyo, era anywenga ne ku kikompe. Kubanga buli alya era anywa nga tategeera makulu ga mubiri, aba yeesalira yekka omusango okumusinga. Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu abangi abanafu n'abalwadde, era bangi na bafudde. Naye singa tusooka okwesalira omusango fekka, tetwandisaliddwa musango. Naye Mukama bwa tusalira omusango, atukangavvula, tuleme okusingibwa omusango awamu n'ensi. Kale, baganda bange, bwe mukuŋŋaananga okulya, mulindaganenga. Omuntu bw'alumwanga enjala, alyenga eka; okukuŋŋaana kwammwe kulemenga okuba okw'ensobi. N'ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna. Kaakano ku bikwata ku birabo eby'omwoyo, ab'oluganda, ssaagala mmwe obutabitegeera. Mumanyi bwe mwali ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitoogera, nga mukyamizibwa mu ngeri yonna. Kyenva mbategeeza tewali n'omu ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti, “Yesu akolimiddwa;” era tewali n'omu ayinza okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula mu Mwoyo Omutukuvu. Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Omwoyo ali omu. Era waliwo engeri nnyingi ez'okuweereza, era Mukama waffe ali omu. Era waliwo okukola kwa ngeri nnyingi, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bonna. Omwoyo alabikira mu buli muntu olw'okugasa bonna. Omwoyo awa omu ekigambo eky'amagezi; n'omulala Omwoyo oyo y'omu n'amuwa ekigambo eky'okutegeera. Omulala Omwoyo oyo y'omu n'amuwa okukkiriza, n'omulala n'amuwa ebirabo eby'okuwonyanga. Omulala n'amuwa okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo; omulala okwogeranga ennimi; n'omulala okuvvuunulanga ennimi; naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala. Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi, n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo. Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu. Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi. Ekigere bwe kyogera nti, “Kubanga siri mukono, n'olwekyo, siri kitundu kya mubiri;” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. Era okutu bwe kwogera nti, “Kubanga siri liiso, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri;” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. Omubiri gwonna singa liiso, okuwulira kwandibadde wa? Gwonna singa kuwulira, okuwunyiriza kwandibadde wa? Naye kaakano Katonda yassaawo ebitundu buli kinnakimu mu mubiri, nga bwe yayagala. Era byonna singa kyali kitundu kimu, omubiri gwandibadde wa? Naye kaakano ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu. N'eriiso teriyinza kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba omutwe okugamba ebigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” Naye, ekisinga ennyo, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubeera ebinafu byetaagibwa, n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutaba na kitiibwa nnyo bye twambaza ekitiibwa ekisinga obungi, n'ebitundu byaffe ebitali birungi bye tusinga okulabirira; naye ebitundu byaffe ebisinga obulungi kye biteetaaga. Bwatyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n'abiwa ekitiibwa ekisinga obungi; walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka. Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonerabonera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo. Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu. Era Katonda yassaawo mu kkanisa, okusooka batume, abokubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, ne kuddako abakola eby'amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi. Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola eby'amagero? Bonna balina ebirabo eby'okuwonyanga? Bonna boogera ennimi? Bonna baavvuunula? Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era kambalage ekkubo erisinga ennyo obulungi. Bwe njogera n'ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba nga ekide ekivuga, oba ekitaasa ekisaala. Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba ssiri kintu. Era bwe mpaayo bye nnina byonna eri abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye nga sirina kwagala, mba ssiriiko kye ngasizza. Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu era tekusiba kibi ku mwoyo; tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kugumiikiriza byonna. Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo. Kubanga tutegeerako kitundu, era ne bunnabbi bwaffe bwa kitundu: naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo. Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto. Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulirabira ddala bulungi amaaso n'amaaso; kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala. Naye kaakano waliwo ebintu bisatu: okukkiriza, okusuubira, okwagala, naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala. Mugobererenga okwagala, era mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, n'okusingira ddala eky'okutegeeza eby'obunnabbi. Kubanga ayogera mu nnimi tayogera na bantu; kubanga tewali ategeera by'ayogera, naye aba ayogera byama mu mwoyo. Naye oyo ategeeza eby'obunnabbi atuusa ku bantu ebibazimba, ebibawa amaanyi era ebibagumya. Ayogera ennimi aba yeezimba yekka; naye ategeeza eby'obunnabbi azimba ekkanisa. Kale njagala mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala mutegeeze eby'obunnabbi, kubanga ategeeza eby'obunnabbi ye asinga obukulu ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, ekkanisa eryoke ezimbibwe. Naye kaakano, ab'oluganda, bwe ndijja gye muli ne njogera mu nnimi, ndibagasa ntya? Okuggyako nga mbaleetera ebyo ebimbikuliddwa, bye mmanyi, oba bunnabbi, oba kuyigiriza. Era n'ebivuga ebitalina bulamu, nga endere, oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi agategeerekeka, omuntu ategeera atya oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa? Era singa eŋŋombe tevaamu ddoboozi litegeerekeka, ani alyeteekeraateekera okulwana? Bwe kityo ne ku mmwe bwe kiri, singa omuntu ayogera mu nnimi ebitategeerekeka, oli aliyinza atya okutegeera ekyogeddwa? Aba ayogeredde mu bbanga. Weewaawo waliwo mu nsi ennimi nnyingi, era tewali lutalina makulu. Naye bwe ssimanya makulu ga lulimi mba mugwira eri ayogera, naye bwatyo gye ndi. Bwe mutyo nammwe, kubanga mwegomba eby'omwoyo, mufubenga nnyo okubeera mu bizimba ekkanisa. Kale ayogera mu lulimi asabe okufuna amaanyi agaluvvuunula. Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo gwange gusaba, naye amagezi gange tegabala bibala. Kale kiki kye mba nkola? Nnaasabanga n'omwoyo, era nnaasabanga n'amagezi; nnaayimbanga n'omwoyo, era nnaayimbanga n'amagezi. Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, oyo atategedde ky'ogamba anaddangamu atya nti, “Amiina,” olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde? Kubanga ggwe oyinza okuba nga weebaziza bulungi, naye omuntu omulala nga tazimbiddwa. Nneebaza Katonda, kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna; naye mu kkanisa njagala wakiri njogere ebigambo bitaano n'amagezi gange, nga njigiriza, okusinga ebigambo omutwalo mu lulimi olutategeerekeka. Ab'oluganda, temubanga baana bato mu kulowooza, mube bato mu bubi, naye mu kulowooza mube bakulu. Kyawandiikibwa mu mateeka nti, “Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannamawanga; era newakubadde bwe kityo tebalimpulira, bw'ayogera Mukama” N'olwekyo ennimi kyeziva zibeera akabonero, si eri abo abakkiriza, wabula eri abatakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw'abo abakkiriza. Kale ekkanisa yonna bw'eba ng'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne boogera ennimi, ne wayingira ab'ebweru oba abatakkiriza, tebaligamba nti mulaluse? Naye singa bonna bategeeza eby'obunnabbi, ne wayingira atakkiriza oba ow'ebweru, ebyogerwa bijja kumuleetera okwenenya, nga mu byonna yeesalira omusango. Ebyama eby'omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke avuuname ku ttaka, asinze Katonda, ng'ayogera nga Katonda bwali mu mmwe ddala. Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza; byonna bikolebwenga olw'okuzimba. Singa wabaawo muntu ayogera mu nnimi, boogerenga babiri oba obutasukka basatu, naye mu mpalo, era omu avvuunulenga; naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye ne Katonda. Ne bannabbi boogerenga babiri oba basatu, ng'abalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa. Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo, eyasoose asirikenga. Kubanga mwenna muyinza okubuuliranga kinnoomu, bonna bayigenga, era bonna basanyusibwenga; n'emyoyo gya bannabbi gifugibwa bannabbi. Kubanga Katonda si wa luyoogaano, naye wa mirembe; nga bwe kiri mu kkanisa ez'abatukuvu zonna. Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebakkirizibwa kwogera; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe googera. Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa. Kiki! ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba kyatuuka eri mmwe mwekka? Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe. Naye omuntu yenna bw'atategeera, aleme okutegeera. Kale ab'oluganda, mwegombenga okutegeeza eby'obunnabbi, era temuziyizanga kwogeranga mu nnimi. Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi. Kaakano, ab'oluganda, mbajjukiza bye nnasinzirako okubabuulira Enjiri, gye mwafuna, gye muyimiriddemu, gye mulokokeramu, singa muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere. Kubanga nnabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba, nga yaziikibwa, nga yazuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba, era nga yalabikira Keefa, n'alyoka alabikira ekkumi n'ababiri; n'alyoka alabikira ab'oluganda abasukka mu bikumi ebitaano (500) omulundi gumu, era bangi ku bo abakyali abalamu newakubadde nga abamu baafa. Olwo n'alyoka alabikira Yakobo ate n'alyoka alabikira abatume bonna. Oluvannyuma lwa bonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole. Kubanga nze ndi muto mu batume, atasaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda. Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi, n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere. Kubanga nnakola emirimu mingi okusinga bonna, naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange. Kale oba nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza. Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, ate lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kw'abafu? Naye oba nga tewali kuzuukira kw'abafu, era ne Kristo teyazuukizibwa; era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n'okukkiriza kwammwe tekuliimu. Era naye tulabika ng'abajulirwa ab'obulimba aba Katonda; kubanga twategeeza Katonda nga yazuukiza Kristo, gw'ataazuukiza, oba ng'abafu tebazuukizibwa. Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa. Oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe. Era n'abo abaafiira mu Kristo baazikirira. Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n'essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna. Naye kituufu Kristo yazuukizibwa mu bafu, ebibala ebibereberye eby'abo abaafa. Kubanga okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n'okuzuukira kw'abafu kwaleetebwa muntu. Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu. Naye buli muntu mu kifo kye ye, Kristo ye yasooka, oluvannyuma mu kujja kwe ababe baddeko. Olwo enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza. Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye. Omulabe alisembayo okuzikirizibwa kwe kufa. Kubanga “Katonda atadde ebintu byonna wansi w'ebigere bye.” Naye bwe kigambibwa nti, “ Ebintu byonna bisiddwa wansi w'ebigere bye.” Kiba kitegeeza nti ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we. Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi w'oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna. Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? Oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo? Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera? Ab'oluganda, mpakanya, okwenyumiriza kwe nnina mu mwe, ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe, nange nfa buli lunaku. Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa,“ tulye tunywe, kubanga tufa enkya.” Temulimbibwanga, “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” Muddemu amagezi, temuddamu kwonoona, kubanga abalala tebamanyi Katonda, njogedde kubakwasa nsonyi. Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “ Abafu bazuukizibwa batya? Era mubiri ki gwe bajja nagwo?” Musirusiru ggwe, ensigo gy'osiga temeruka nga tefudde, ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala; naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka. Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja. Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi, naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala. Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala, kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa. Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda: gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi, gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo. Era bwe kityo kyawandiikibwa nti, “Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu.” Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu. Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo. Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka, omuntu ow'okubiri yava mu ggulu. Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bali bwe batyo, era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali, era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo. Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu. Naye kino kye ŋŋamba, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda; so okuvunda tekusikira butavunda. Laba, kambabuulire ekyama: Ffenna tetulifa, naye fenna tulifuusibwa, mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa. Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa. Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti, “Okufa kumiriddwa mu kuwangula. Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa?” Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka: naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe. Ku bikwata ku kukuŋŋaanyiza ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo. Ku lunaku olusooka mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe abeeko kyatereka ewuwe nga asinziira ku busobozi bwe, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja. Era bwe ndituuka be mulisiima bendiwa ebbaluwa ne mbatuma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi. Era bwe kirirabika nga kiryetaagisa nange okugenda, baligenda nange. Ŋŋenda kujja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ŋŋenda kuyita mu Makedoni. Oboolyawo ndibeera nammwe, oba n'okumala ndimalayo nammwe ebiseera eby'obutiti byonna, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna. Kubanga ssaagala kubalaba nga mpita buyisi, naye nsuubira okumala nammwe ekiseera ekiwerako, Mukama waffe bw'alikkiriza. Naye nja kusigala mu Efeso okutuusa ku Pentekoote, kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era n'abalabe bangi. Naye Timoseewo bw'alijja, mulabe nga mumuyamba abeere nammwe awatali kutya; kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze. Kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'oluganda. Naye ku bya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda, n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga. Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga bazira, ba maanyi. Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala. Naye mbeegayirira, ab'oluganda mumanyi ennyumba ya Suteefana, be basooka okukkiriza mu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu, nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu afuba okukolera awamu naffe. Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza. Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe, kale mukkirizenga abali ng'abo. Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe. Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno, n'omukono gwange. Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe. Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina. Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, awamu n'abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna. Ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna; atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda. Kuba nga bwe tugabana ennyo mu bibonyoobonyo bya Kristo, era bwe tutyo mu Kristo mwe tugabanira ennyo essanyu. Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusanyusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebibonyoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa. Essuubi lyaffe lya maanyi gye muli, kubanga tumanyi nti nga bwe mugabana ku bibonyoobonyo byaffe, era bwe mutyo mugabana ne ku ssanyu lyaffe. Kubanga ab'oluganda, tetwagala mmwe obutategeera, okubonyaabonyezebwa okwatutuukako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu. Ffe lwaki twawulira nga abasaliddwa ogw'okufa; ekyo kyaliwo, tuleme kwesiga maanyi gaffe, wabula twesige Katonda azuukiza abafu. Katonda eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga; era oyo gwe tulinamu essuubi ery'okutuwonyanga. Nammwe mutuyambe mu kusaba, bwe batyo bangi beebaze Katonda ku lwaffe, olw'emikisa egituweereddwa olw'okusaba kw'abangi. Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, omwoyo gwaffe gutukakasa nti mu nsi muno, n'okusingira ddala mu mmwe, tubadde tweyisa mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda. Kubanga tetubawandiikira birala wabula ebyo bye musobola okusoma era n'okutegeera, era nsuubira nga mulibitegeerera ddala. Era nga bwe mutegeeddeko ekitundu, musobola okwenyumiriza mu ffe, era nga naffe bwe tulyenyumiriza mu mmwe ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. Olw'okubanga nali nnekakasa mu ekyo, n'ayagala nnyo okusooka okujja gye muli, mulyoke muweebwe omukisa gwa mirundi ebiri. N'ayagala mbakyalire nga ŋŋenda e Makedoni, era nkomewo gye muli nga nva e Makedoni, mulyoke munsibirire nga ŋŋenda e Buyudaaya. Kale bwe nnali njagala okukola ekyo, nnalagaalaganya? Oba bye nteesa, mbiteesa ng'omuntu ow'omunsi, okugamba nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo? Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe gye muli tekiri nti weewaawo ate nti si weewaawo. Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye bulijjo mulimu weewaawo. Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo; era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe. Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda; era eyatussaako akabonero, n'atuwa omusingo ogw'Omwoyo mu mitima gyaffe. Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, era kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira. Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab'essanyu lyammwe: kubanga muli banywevu mu kukkiriza. Naye nnamalirira mu mutima gwange, obutajja nate na nnaku gye muli. Kubanga nze bwe mbanakuwaza, kale ansanyusa ye ani wabula oyo nze gwe nnakuwaza? N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja nneme kunnakuwazibwa abo abagwanira okunsanyusa; kubanga mbeesiga mmwe mwenna, ng'essanyu lyange lye lyammwe mwenna. Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina gye muli bwe kuli okungi ennyo. Naye bwe wabaawo omuntu eyaleeta okunakuwala, aba tanakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okubazitowerera ennyo. Kubanga ali bw'atyo ekibonerezo ekyo ky'awereddwa abangi kimala. Kyekiva kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi. Kyenva mbeegayirira okunyweza okwagala gyali. Kubanga era kyennava mpandiika, ndyoke mbagezese ntegeere, oba nga muli bawulize mu bigambo byonna. Buli gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo. Setaani alemenga kutwekulumbalizaako; kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe ze. Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'Enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe, omutima gwange tegwatereera kubanga saasangayo Tito muganda wange. Kyennava mbasiibula ne ŋŋenda mu Makedoni. Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawanguzi mu Kristo, era naatukozesa okumumanyisa mu bantu bonna, ng'evvumbe erisaasanira wonna. Kubanga tuli vvumbe eddungi erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu abo ababula. Eri abo ababula tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri abalokoka tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza? Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi b'ekigambo kya Katonda, naye ng'abantu ab'amazima era abaatumibwa Katonda, bwe tutyo mu maaso ga Katonda bwe twogera mu Kristo. Tutandise nate okwetendereza fekka? Oba twetaaga ebbaluwa ng'abalala, ezitusemba gye muli, oba mmwe ze muwandiise nga zitusemba? Mmwe muli bbaluwa yaffe, etusemba ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, abantu bonna gye bategeera, gye basoma. Era mweraga okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twaleeta, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande eby'emitima gy'abantu. Obwo bwe bwesige bwe tulina okuyita mu Kristo eri Katonda, si kubanga fekka tulina obusobozi, okulowooza ekigambo kyonna ng'ekiva gyetuli; naye obusobozi bwaffe buva eri Katonda. Oyo ye yatusobozesa okuba abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab'Omwoyo; kubanga ennukuta etta, naye Omwoyo guleeta obulamu. Naye oba nga okuweereza okw'okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa bwe kityo, n'abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky'amaaso ge; ekyali kigenda okuggwaawo, okuweereza okw'Omwoyo tekulisinga nnyo okuba n'e kitiibwa? Kuba oba ng'okuweereza okw'omusango kye kitiibwa, okuweereza okw'obutukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza ekitiibwa. Ddala mu nsonga eyo ekyo ekyali kirina ekitiibwa luli, kaakano tekikyalina kitiibwa, olw'ekitiibwa ekisingirawo ddala. Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kiteekwa okusinga ennyo okuba n'ekitiibwa. Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi. So si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo. Naye emitima gyabwe gyakakanyazibwa; kubanga n'okutuusa leero bwe basoma endagaano ey'edda eky'okubikkako kiri kikyaliwo; eky'okubikkako ekyo kivaawo mu Kristo. Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe. Naye omuntu bw'akyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo. Naye Mukama waffe gwe Mwoyo, era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe. Naye ffe fenna, bwe tuggyibwako eky'okubika ku maaso, nga tulaba ekitiibwa kya Mukama waffe, tukyusibwa okufaananyizibwa nga ye, okuva ku mutendera gumu ogw'ekitiibwa okutuusa ku mulala, kubanga kino kiva eri Mukama gwe Mwoyo. Kale, nga bwe tulina okuweereza kuno, olw'okusaasira kwa Katonda, tetuddirira. Naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima tuleka buli muntu atulowoozeeko ng'Omwoyo gwe bwe guli mu maaso ga Katonda. Era newakubadde ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako eri abo ababula. Be bo abatakkiriza, Setaani omufuzi ow'emirembe gino be yaziba emitima gyabwe, n'abaziyiza okulaba omusana gw'Enjiri ey'ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda. Kubanga tetwebuulira fekka, wabula Kristo Yesu nga ye Mukama waffe, naffe nga tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. Kubanga Katonda ye yayogera nti, “Leka omusana gwake mu kizikiza,” eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo. Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe. Tubonyaabonyezebwa mu buli ngeri, naye tetumalibwawo; tusoberwa, naye tetuggwaamu ssuubi. Tuyigganyizibwa, naye tetulekebwa; tumeggebwa, naye tetuzikirira. Bulijjo tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe. Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa. Bwe kityo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu mu mmwe. Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Nakkiriza, kyennava njogera,” Era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera. Nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, era naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe. Kubanga byonna biri ku bwammwe, ekisa ekyo nga bwe kyeyongera okubuna mu bantu abangi, kyongera okuleeta okwebaza Katonda n'okumuweesa ekitiibwa. Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe ow'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka omuggya bulijjo bulijjo. Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n'emirembe. Ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika, kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe. Kubanga tumanyi nti, oba ng'ennyumba yaffe ey'ensiisira ey'omu nsi eryabizibwa, tulina eyazimbibwa eva eri Katonda, ennyumba etaazimbibwa na mikono, ey'emirembe n'emirembe, ey'omu ggulu. Kubanga tusindira mu eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu, bwe tulyambazibwa, mpozzi tuleme okusangibwa nga tuli bwereere. Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si kubanga twagala okwambula, wabula okwambazibwa, ogwo ogufa gulyoke gumirwe obulamu. Naye eyatukolera ekyo ye Katonda, eyatuwa Omwoyo okuba omusingo. Kyetuva tuguma ennaku zonna, era tumanya nti bwe tuba mu mubiri tuba wala Mukama waffe. Kubanga tutambula olw'okukkiriza, sso si ku kulaba. Tuguma, era kino kye tusinga okwagala, okuva mu mubiri guno, n'okubeera Mukama waffe gy'ali. Era kyetuva tufuba, oba nga tukyali muno, oba nga tuli wala, okusiimibwa ye. Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe ekimusanira okusinziira ku birungi oba ku bibi bye yakola nga akyali mu mubiri. N'olw'ekyo, bwe tumanya okutya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye Katonda amanyi bwe tuli, era nsuubira nga nammwe mumanyi mu myoyo gyammwe. Tetwetendereza nate gye muli, wabula okubawa mmwe kye munaasinziirangako okwenyumirizanga ku lwaffe, mulyoke mubenga n'eky'okubaddamu abeenyumiriza olw'ebyo ebirabika, so si mu mutima. Kuba oba nga tulaluse, tulaluse eri Katonda; oba nga twegendereza, twegendereza ku lwa mmwe. Kubanga okwagala kwa Kristo kwe kutufuga, nga tulowooza bwe tuti ng'omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. Naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw'oyo eyabafiirira n'azuukira. Okusooka leero kyetuva tulema okumanya omuntu yenna okusinziira ku ndaba y'obuntu; okumanya newakubadde okusooka twatwala Kristo mu ndaba y'obuntu, naye kaakano tetukyamumanya nate bwe tutyo. N'olw'ekyo omuntu yenna bw'aba mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya. Naye byonna biva eri Katonda, eyatutabaganya naye yekka ku bwa Kristo, n'atuwa ffe okuweereza okw'okutabaganya. Kwe kugamba nti Katonda yali mu Kristo ng'atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky'okutabaganya. Kyetuva tubeera ababaka mu kifo kya Kristo, Katonda ng'afaanana ng'abeegayirira okuyita mu ffe, tubeegayirira mu kifo kya Kristo mutabagane ne Katonda. Ataamanya kwonoona, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye. Era bwe tukolera awamu ne Katonda, tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda. Kubanga Katonda agamba nti, “Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba; laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi.” Tetuteeka nkonge yonna mu kkubo lya muntu yenna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa. Naye ng'abaweereza ba Katonda, twetendereza mu byonna, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, ne mu nnaku. Mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, ne mu kusiiba. Mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi. Mu kigambo eky'amazima, mu maanyi ga Katonda; n'olw'eby'okulwanyisa eby'obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono. Olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, olw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa. Tuyitibwa ng'abalimba, naye nga tuli ba mazima. Ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, naye ne tutattibwa. Abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna. Akamwa kaffe kaasamiddwa gye muli, Abakkolinso, n'omutima gwaffe tugubabikulidde. Ffe tetubanyigiriza, naye mwenyigiriza mmwekka mu myoyo gyammwe. Njogera nammwe ng'abaana, mutubikulire emitima gyammwe. Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana; kubanga obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba omusana gussa gutya ekimu n'ekizikiza? Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba omukkiriza agabana mugabo ki n'atali mukkiriza? Era Yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? Kubanga ffe tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti, “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.” “Kale ” Muve wakati mubo, mweyawule, bw'ayogera Mukama, So temukwatanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza, Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli, “Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.” Abaagalwa nga bwe tulina ebisuubizo ebyo, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda. Mutubikulire emitima gyammwe; tetwonoonanga muntu yenna, tetuguliriranga muntu yenna, tetulyazaamaanyanga muntu yenna. Soogedde kubanenya, kubanga nayogedde dda nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe. Njogera n'obuvumu bungi gye muli, nneenyumiriza nnyo ku lwammwe; njijudde nnyo essanyu, nsukkiridde okujaguza mu bibonoobono byaffe byonna. Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya. Naye asanyusa abasobeddwa, ye Katonda, n'atusanyusa ffe, olw'okujja kwa Tito. So si lwa kujja kwe kwokka, era naye n'olw'okusanyusibwa kwe mwa musanyusa, bwe yatubuulira okwegomba kwammwe, okunakuwala kwammwe, okunyiikira kwammwe ku lwange; nange kyennava nneeyongera okusanyuka. Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga nnamala okwejjusa; kubanga ndabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza akaseera. Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe. Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw'obulokozi okutejjusibwa: naye okunakuwala okw'omu nsi kuleeta okufa. Kubanga, laba, okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba okungi, era n'okuwoza ensonga yammwe, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiikira, era n'okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo. Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi, newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda. Kyetwava tusanyusibwa; ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga mmwe mwenna mwawummuza omwoyo gwe. Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima. N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli, ng'ajjukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana. Nsanyuse kubanga mu byonna nnina obwesige mu mmwe. Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda kye yalaga ekkanisa ez'e Makedoni. Mu kugezebwa kwabwe, nga baabonyaabonyezebwa ennyo, essanyu lyabwe eryasukkirira, n'obwavu bwabwe obwassuka, byombi byajjuzibwa okugaba kwabwe okwanjulukufu. Kubanga, ntegeeza nti bo, baagaba okusinziira ku busobozi bwabwe, era nkakasa nga baasinzawo, naye nga beeyagalidde bokka. Baatusaba n'okwegayirira okungi bakkirizibwe okwegatta n'abo abayamba abatukuvu. Era baakola si nga bwe nnali ndowooza, naye baasooka okwewaayo bokka eri Mukama waffe, n'eri ffe mu kwagala kwa Katonda. Kyetwava tusaba Tito, nga bwe yatandika edda omulimu ogwo ogw'ekisa, ajje agumalirize ne mu mmwe. Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe gyetuli, era musukkirirenga ne mu mulimu guno ogw'ekisa. Soogera nga mbalagira bulagizi, wabula okukakasa nti olw'okufuba kw'abalala okwagala kwammwe nakwo kwa mazima. Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe. Ku nsonga eno mbawa amagezi, kisingako kaakano okumaliriza kye mwatandika omwaka gumu ogwayita, sso si kukola kwokka, era naye n'okwagala, bwe butyo obumalirivu bwammwe obw'okukyagala bwenkane n'okukimaliriza, nga mukozesa ebyo bye mulina. Kuba oba nga waliwo kye mwagala okukola, kikkirizibwa okusinziira ku muntu kyalina, sso si ekyo kyatalina. Kubanga soogedde bwe ntyo, abalala bawummuzibwe, nammwe muteganyizibwe; wabula olw'okwenkanankana, mmwe bye mulina ebingi mu kiseera kino, bibayambe bo mu kwetaaga kwabwe. Ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi, biribayamba mmwe mu kwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo. Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.” Naye Katonda yeebazibwe, awadde Tito omutima ogubalumirwa. Kubanga teyakoma ku kukkiriza bukkirizza kye twamusaba, naye kennyini mukufuba ajja gye muli ku bubwe. Era tutuma wamu naye ow'oluganda, atenderezebwa olw'okubuulira Enjiri mu kkanisa zonna. Sso si ekyo kyokka, era naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe, Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage n'okwagala kwaffe. Twewala omuntu yenna obutatunenya olw'ekirabo kino kye tuweereza. Kubanga tuteekateeka ebirungi, si mu maaso ga Mukama waffe mwokka, era naye ne mu maaso g'abantu. Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano munyiikivu nnyo okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina gye muli. Ebya Tito ye, assa kimu nange, era ye mukozi munnange mu buweereza bwammwe, era ebya baganda baffe abo, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo. Kale mu maaso g'ekkanisa mubalage ekikakasa okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe. Kubanga tekinneetaagisa kubawandiikira ku by'ebirabo ebiweebwayo okuyamba abatukuvu. Kubanga mmanyi nga muli beetegefu okuyamba, ekyo kye mbeenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga mbagamba nti, “Ab'omu Akaya beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita.” Era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi mu bo. Naye ntuma ab'oluganda, gye muli okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; wabula mube beetegefu nga bwe njogedde. Sikulwa ng'abamu ku be Makedoni abalijja nange, balibasanga nga temweteeseteese, ffe, ne bwe siiyogere ku kuswala okwammwe, ne tukwatibwa ensonyi olw'obwesige bwetwabalinamu. Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere okujja gye muli, bateeketeeke ekirabo ekyo kye mwasuubiza, kisangibwe nga kitegekeddwa lwa kweyagalira, sso si lwa kuwalirizibwa. Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi. Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu. Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli; mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi. Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yasaasaanya, yagabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna.” Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga, anaabongerangako ensigo zammwe, era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe. Munnagaggawazibwa mu byonna ne mugaba nnyo, okuyita mu ffe Katonda yeebazibwenga. Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda: Kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda kwammwe n'okukkiriza Enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bwammwe gyebali n'eri abalala bonna. Era bo bokka nga babalumirwa mmwe n'okubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe. Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka. Naye nze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze omwetoowaze bwe mba nammwe, ate omuzira nga siri nammwe. Kale mbeegayirira bwegayirizi, bwe ndiba nga ndi nammwe, nneme okubalaga obuzira obwo bwe nkozesa eri abalala abalowooza nga ffe tutambula okugobereranga omubiri. Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri, kubanga eby'okulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye birina amaanyi agava eri Katonda olw'okusaanyawo ebigo. Tusaanyaawo empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo okugondera Kristo. Tweteeseteese okubonereza obutagonda bwonna, okugonda kwammwe lwe kulituukirira. Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeekakasa muli nga wa Kristo yeerowooze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era naffe bwe tutyo. Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe, Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula, mu byonna ssirikwatibwa nsonyi. Sandyagadde kufaanana ng'abatiisa n'ebbaluwa zange. Kubanga boogera nti, “Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; naye bw'abaawo omubiri gwe munafu, n'okwogera kwe si kintu.” Alowooza kino, ategeere nti bye tugamba mu bbaluwa nga tetuliiyo, era bye tukola nga tuli nammwe. Kubanga tetwaŋŋaanga kwebalira ku muwendo gw'abo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina kutegeera. Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli. Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli; kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu Njiri ya Kristo. Tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala; naye nga tusuubira, okukkiriza kwammwe bwe kukula okugulumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira. Olwo tulisobola okubuulira Enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga ewammwe, nga tetwenyumiriza lwa mulimu ogukoleddwa mu kitundu kyabalala. Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe. Kubanga omuntu eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama waffe gw'atendereza. Nnandyagadde mungumiikirize mu busirusiru bwange obutono; era ddala mungumiikirize. Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda; kubanga nnabafumbiza bbammwe omu Kristo, ndyoke mbaleete gyali nga omuwala omulongoofu. Naye ntidde, nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukujjukujju bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe biyinza okukyamizibwa muleme okweweerayo ddala mu mazima eri Kristo. Kuba omuntu bw'ajja n'ababuulira Yesu omulala gwe tutaababuulira, oba bwe muweebwa omwoyo omulala gwe mutaaweebwa, oba Njiri ndala, gye mutakkiriza, mwanguwa okubikkiriza. Kubanga ndowooza nti mu butono bwange ssisingibwa nnyo abatume abo abakulu. Naye newakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye siri bwentyo mu kutegeera; naye mu byonna ne mu buli ngeri ekyo twakibolesa. Nnayonoona bwe nneetoowaza nzekka mmwe mugulumizibwe kubanga nnababuulira Enjiri ya Katonda awatali kubasasuza? Nnanyaga ekkanisa endala, nga mpeebwa empeera okuva gyebali ndyoke mbaweereza mmwe. Era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda abaava mu Makedoni, bandeetera byonna bye nali nneetaaga. Mu byonna nneekuuma era nja kwekuumanga obutabazitoowereranga, mu ngeri yonna. Ng'amazima ga Kristo bwe gali mu nze, siwali alinziyiza okwenyumiriza okwo mu nsalo ez'e Yakaya. Lwaki? kubanga sibaagala? Katonda amanyi nti mbaagala. Ekyo kye nkola, nja kweyongera okukolanga bwentyo, ndyoke nziyize abo abeenyumiririza mu butume bwabwe, nga bagamba nti bakola nga bwe tukola. Kubanga abali ng'abo be batume ab'obulimba, abakozi ab'obukuusa, abeefaananya ng'abatume ba Kristo. So si ky'amagero; kubanga ne Setaani yeefaananya nga malayika ow'omusana. Kale si kitalo era n'abaweereza be bwe beefaananya ng'abaweereza ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe. Nziramu okugamba nti Omuntu yenna aleme okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza bwe mutyo, kale munsembeze ng'omusirusiru, nange nneenyumirizeeko akatono. Kye njogera, sikyogera nga kigambo kya Mukama waffe, naye nga mu busirusiru, mu buvumu buno obw'okwenyumiriza. Kubanga bangi abeenyumiriza mu mubiri, nange nneenyumiriza. Kubanga mugumiikiriza n'essanyu abasirusiru, kubanga mmwe muli bagezigezi. Kubanga mugumiikiriza omuntu, bw'abafuula abaddu, bw'abamira, bw'abawamba, bwe yeegulumiza, bw'abakuba mu maaso. Njogedde olw'okweswaza, ng'abanafuwala. Naye omuntu yenna ky'agumira (njogera mu busirusiru), nange nguma. Bo Baebbulaniya? Nange. Bo Baisiraeri? Nange. Bo zzadde lya Ibulayimu? Nange. Bo baweereza ba Kristo? (njogera ng'omulalu) Nze mbasinga; mu kufuba mbasukkirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubibwa okuyingirira ennyo, era emirundi mingi nga mbulako katono okufa. Eri Abayudaaya nnakubibwa emirundi etaano (5) emiggo asatu mu mwenda (39). Emirundi esatu (3) nnakubibwa enga, omulundi gumu nnakasuukirirwa amayinja, emirundi esatu (3) eryato lyayatika, nnasula ne nsiiba mu buziba bw'ennyanja. Mu kutambulanga emirundi emingi, nnatuukibwako obulabe obuva mu migga, obulabe obuva mu banyazi, obulabe obuva eri eggwanga lyange, obulabe obuva eri ab'amawanga, obulabe obuva mu kibuga, obulabe obuva mu ddungu, obulabe obuva mu nnyanja, n'obulabe obuva mu b'oluganda ab'obulimba. Mu kufuba n'okukoowa, mu kutunulanga emirundi emingi, mu njala n'ennyonta, mu kusiibanga emirundi emingi, mu mpewo n'okubeera obwereere. Okwongera ku ebyo, waliwo ekinzitoowerera bulijjo bulijjo, okwerariikiriranga olw'ekkanisa zonna. Ani omunafu, nange bwe ssiba munafu? Ani akemebwa n'agwa, nange ne sisaalirwa? Oba nga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, nneenyumirizanga olw'eby'obunafu bwange. Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, eyeebazibwa emirembe gyonna, amanyi nga ssirimba. Mu Ddamasiko owessaza eyateekebwawo kabaka Aleta yateega ekibuga Ddamasiko, alyoke ankwate: ne bampisa mu ddirisa nga ndi mu kisero ku bbugwe, ne ndokoka okuva mu mikono gye. Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newakubadde nga tekusaana; naye ka ŋŋende mu kwolesebwa n'okubikkulirwa kwa Mukama waffe. Mmanyi omuntu mu Kristo, emyaka ekkumi n'ena (14) egiyiseewo eyatwalibwa mu ggulu eryokusatu, oba mu mubiri, oba si mu mubiri, ssimanyi; Katonda ye amaanyi. Era mmanyi nti omuntu oyo oba mu mubiri, oba si mu mubiri, ssimanyi; Katonda ye amanyi, bwe yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula. Ku bw'omuntu oyo nneenyumirizanga; naye ku bwange ssiryenyumiriza, wabula mu by'obunafu bwange. Kuba singa nnayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga mba njogera mazima; naye mbireka omuntu yenna aleme kulowooza ku nze okusinga kyandabamu oba kyawulira gyendi. Naye olw'okunziyiza okwegulumiza ennyo, olw'ebyo ebyambikkulirwa, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okumbonyaabonya, nnemenga okugulumizibwa ennyo. Emirundi esatu nneegayirira Mukama ekigambo ekyo kinveeko. N'aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala; kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu.” Kyenaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze. Kale olwa Kristo, kyenva nsanyukira obunafu, okugirirwanga ekyejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi. Mbadde musirusiru! Mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira mmwe okuntendereza; kubanga newakubadde nga nze siri kintu, naye abatume abo abakulu ennyo, tebansinga mu kigambo kyonna. Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi. Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingamu, okuggyako nze nzekka obutabazitoowereranga? Munsonyiwe ekyonoono ekyo. Laba, omulundi ogwokusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera, kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe, kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana. Ndiwaayo ebyange, era nange ndyeweerayo ddala ku lwammwe, nga ndi musanyufu. Kale bwe mbaagala ennyo, mmwe musaana kunjagala katono? Mukkiriza nti nze ssaabazitoowerera, naye, bwe nnali omugerengetanya, nnabatega mu lukwe ne mbakwasa. Waliwo amagoba gonna ge nnafuna okuva gye muli okuyita mu abo be nnabatumira? Neegayirira Tito okugenda, era ne ntuma ow'oluganda omulala awamu naye. Tito yafuna amagoba gonna okuva gye muli? Ye nange tetwakolera mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu? Obw'edda mulowoozezza nga ffe twewolereza mu maaso gammwe? Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, twogera bya kubazimba mmwe. Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi nneme okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi ne wabaawo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, n'okujeema. Era ntya nti bwe ndijja nate, Katonda wange alintoowaza mu maaso gammwe, nange ne nakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola. Guno gwe mulundi ogwokusatu nga njija gye muli. Mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera. Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira. Kubanga munoonya ekikakasa nga Kristo ayogerera mu nze; Kristo oyo si munafu nga akolagana nammwe, naye alina amaanyi mu mmwe; Kubanga yakomererwa mu bunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye mu kukolagana nammwe tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda. Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temutegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozzi ng'ekigezo ekyo kibalemye! Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetulemeddwa. Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi, ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa. Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba. Kubanga tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, nammwe bwe muba n'amaanyi; era na kino tukisaba, mmwe okutuukirira. Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya. Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba. Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n'emirembe, ne Katonda ow'okwagala n'emirembe anaabanga nammwe. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. Abatukuvu bonna babalamusizza. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna. Pawulo omutume, ataabufuna kuva mu bantu wadde okuyita mu muntu, wabula okuva eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu, n'ab'oluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez'e Ggalatiya. Ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, eyeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi ng'okwagala kwa Katonda era Kitaffe bwe kuli, aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Nneewuunya kubanga muvudde mangu ku oyo, eyabayita mu kisa kya Kristo okugoberera enjiri endala, si kuba nti waliwo enjiri endala, wabula mwatawanyizibwa abantu abamu, abaagala okukyusiza ddala Enjiri ya Kristo. Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo ne kaakano nkiddamu nti, Omuntu bw'ababuuliranga enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza, akolimirwenga. Nkolerera kusiimibwa bantu, nantiki Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nga nkyali mu kusanyusa abantu, ssandibadde muddu wa Kristo. Kubanga mbategeeza, ab'oluganda, nti Enjiri gye nnababuulira, si ya buntu, kubanga nange ssaagiweebwa muntu wadde okuyigirizibwa omuntu, wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira. Kubanga mwawulira nga bwe nnali edda mu ddiini y'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda nga ngezaako okugizikiriza. ne mpitirizanga mu ddiini y'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange. Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye, n'ambikkulira Omwana we, ndyoke mmubuulirenga mu b'amawanga; sseebuuza ku muntu n'omu, so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume, naye n'agenda mu Buwalabu, oluvannyuma ne nkomawo mu Ddamasiko. Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne nnyambuka e Yerusaalemi okulaba Keefa, ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano (15). Naye ssaalaba mulala ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. Kale, bye mpandiika, si bya bulimba mu maaso ga Katonda. Awo bwe n'avaayo ne ŋŋenda mu bitundu bye Busuuli ne Kirukiya. Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinantegeera, naye ne bawuliranga buwulizi nti, “Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza,” ne bagulumiza Katonda ku lwange. Awo nga wayiseewo emyaka kkumi n'ena (14) n'ayambuka nate e Yerusaalemi wamu ne Balunabba nga ntutte ne Tito. Nnagendayo lwa kubikkulirwa; ne mbanjulira enjiri, gye mbuulira mu b'amawanga. Nnayogera n'abo abaatenderezebwa, mu kyama bategeere Enjiri gye mbuulira mu b'amawanga, si kulwa nga bwe nkola mba nga akolera obwereere. Naye newakubadde Tito, gwe nnali naye, eyali Omuyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa. Naye olw'ab'oluganda ab'obulimba abaayingizibwa mu kyama, abaayingira mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu buddu. Abo tetwabagonderako n'akatono, amazima g'Enjiri gasobole okubakuumirwa mmwe. Naye abo abatwalibwa okuba ekintu eky'omuwendo, nga bwe bali, ku nze tewali njawulo, Katonda tasosola mu bantu, abo, ŋŋamba, abali baatenderezebwa tebalina kye bannyongerako; naye mu ngeri endala, bwe baalaba nga nnateresebwa Enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey'abakomole kubanga oyo eyakolera Peetero olw'obutume bw'abakomole, ye yakolera ne mu nze olw'ab'amawanga; era bwe baategeera ekisa kye nnaweebwa, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abaatenderezebwa okuba empagi, ne batuwa, nze ne Balunabba, omukono ogwa ddyo ogw'okussa ekimu naffe, ffe tugende eri ab'amawanga, bo bagende eri abakomole; kyokka, baatusaba tujjukirenga abaavu; ekyo kye nnyini kye nesunga okukola. Naye Keefa bwe yajja e Antiyokiya, nnamuwakanya nga tulabagana amaaso n'amaaso, kubanga yali mukyamu ddala. Kubanga abantu abamu abaava ewa Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe bajja, ne yeeyawula n'abaawukanako, ng'atya abakomole. Era n'Abayudaaya abalala bonna abaali naye, ne bamwegattako mu bukuusa, ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe. Naye bwe nnalaba nga teberambise butereevu mu mazima g'Enjiri, ne ŋŋambira Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Oba nga ggwe bw'oli Omuyudaaya ogoberera empisa z'ab'amawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya ab'amawanga okugobereranga empisa z'Ekiyudaaya?” Ffe, Abayudaaya mu buzaaliranwa, tetuli b'amawanga aboonoonyi, kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu. Naye oba nga, mu kufuba kwaffe okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, ffe ffennyini twasangibwa okuba aboonoonyi, kale Kristo muweereza wa kibi? Nedda, n'akatono! Kubanga bwe nzimba nate bye nnasuula, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi. Kubanga olw'amateeka nnafa ku mateeka, ndyoke mbe omulamu eri Katonda. Nnakomererwa wamu ne Kristo; naye ndi mulamu; si ku bwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze: era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange. Ssidibya kisa kya Katonda: kubanga obutuukirivu bwe buba mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere. Mmwe Abaggalatiya abasirusiru! Ani eyabaloga, so nga mwalagibwa mu lwatu Yesu Kristo eyakomererwa? Kino kyokka kye njagala okubabuuza: Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? Bwe mutyo bwe mutalina magezi? Abaasookera mu Mwoyo, kaakati mukomekerereza mu mubiri? Mwabonyaabonyezebwa ebyenkana awo bya bwereere? So nga ddala si bwereere. Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? Mulabe Ibulayimu “yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.” Kale mutegeere nti abantu abakkiriza be baana ba Ibulayimu. N'ekyawandiikibwa, kyalaba edda nti Katonda aliwa Ab'amawanga obutuukirivu lwa kukkiriza, Enjiri neesooka okubuulirwa Ibulayimu nti, “Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa.” Bwe kityo n'abo abali mu kukkiriza baweebwa omukisa Ibulayimu gwe yaweebwa bwe yakkiriza. Kubanga bonna abeesigama ku bikolwa by'amateeka, bali wansi wa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli ataatuukirizenga kukola byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka.” Era kaakano kimanyiddwa nti tewali Katonda gwawa butuukirivu olw'okukuuma amateeka; kubanga, “ Oyo ali mu kukkiriza ye mutuukirivu, yaliba omulamu.” Naye amateeka go tegeesigama ku kukkiriza, “naye nti Omuntu agakola anaabeeranga mulamu mu go.” Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” Kale kaakano mu Kristo Yesu omukisa gwa Ibulayimu gutuuka eri Ab'amawanga, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky'Omwoyo olw'okukkiriza. Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okukakasibwa, tewali agiggyawo newakubadde agyongerako. Kaakano ebyo ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omwana we. Naye tekyogera nti, “ N'eri abaana be nga bangi,” naye eri omu, “nga ye mwana we,” oyo ye Kristo. Kino kye ntegeeza: amateeka, agajja nga wayiseewo emyaka bina mu asatu (430) tegaggyaawo ndagaano Katonda gye yali amaze okukakasa, okusobola okudibya ekyasuubizibwa. Kale oba ng'obusika buva mu mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza. Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gassibwawo lwa kwonoona, okutuusa nga omwana gwe basuubiza ekisuubizo azze, era gaalagirwa bamalayika okuyita mu mutabaganya. Naye omutabaganya kitegeeza kusukka kw'omu, naye Katonda ali omu. Kale olwo amateeka gakontana n'ebisuubizo bya Katonda? Si bwe kiri; kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka. Naye ebyawandiikibwa biteeka ebintu byonna ku kibi, olwo ekyo ekyasuubizibwa olw'okukkiriza Kristo Yesu kiryoke kiweebwe abo abakkiriza. Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa. Bwe kityo amateeka gaatukuuma okutuusa Kristo bwe yajja, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza. Naye kaakano ng'okukkiriza nga kumaze okujja, tetukyali wansi wa mukuumi. Kubanga mu Kristo Yesu mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw'okukkiriza. Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo. Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu. Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali. Ntegeeza kino nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna; naye afugibwa abakuza n'abasigire okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira nga kituuse. Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato, twali baddu nga tufugibwa emyoyo egy'omu nsi. Naye ekiseera kye nnyini bwe kyatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka, alyoke abanunule abafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana. Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe, ng'akaaba nti “Aba, Kitaffe.” Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda. Naye mu nnaku ziri bwe mwali temunnamanya Katonda, mwabanga baddu ba bitonde ebitali bakatonda. Naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya okudda emabega okugoberera emyoyo eminafu egisabiriza, ate era mweteeke mu buddu bwagyo? Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka. Ntidde si kulwa nga okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere. Mbeegayirira ab'oluganda, mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, temunsobyangako; naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira Enjiri omulundi ogwolubereberye; naye newakubadde nga nnabazitowerera olw'obulwadde bwange, temwannyooma oba okunsekerera, naye mwanzikiriza nga malayika wa Katonda, nga Kristo Yesu. Kale okumatira okwo kwe mwafuna kwadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kyetaagisa, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze. Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima? Abo babakozesa bukozesa, naye si lwa bulungi; kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gyebali. Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka. Abaana bange abato, munnyongedde okubeera mu bulumi obungi, okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe, era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okukyusa eddoboozi lyange, kubanga mberalikiridde nnyo. Mmumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka? Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omulala wa wa ddembe. Ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza. Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab'obuddu, eyo ye Agali. Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be. Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Sanyuka, omugumba atazaala; Yanguwa oyogerere waggulu, ggwe atali mu bulumi bwa kuzaala, Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja.” Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kisuubizo nga Isaaka bwe yali. Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo bwe kiri ne kaakano. Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti, “Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe.” Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye tuli baana ab'omukazi ow'eddembe. Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu. Kaakano, nze Pawulo, kambategeeze nti, bwe munaakomolebwa, nga Kristo taliiko ky'abagasa. Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna. Mwawuliddwa ku Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa. Kubanga nga tuyita mu Mwoyo, olw'okukkiriza, tulindirira essuubi ery'obutuukirivu. Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa newakubadde obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala. Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima? Okusendebwasendebwa okwo tekwava eri oyo abayita. Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani. Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? Kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo. Nnandyagadde abo abababuguutanya beeraawe! Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye temukozesa ddembe lyammwe, kukola omubiri bye gwagala, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka. Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti, “Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka. Naye njogera nti mutambulirenga mu Mwoyo, era temuutuukirizanga kwegomba kwa mubiri. Kubanga okwegomba kw'omubiri kulwanagana n'Omwoyo, n'Omwoyo gulwanagana n'omubiri; kubanga ebyo byombiriri bikontana, mulemenga okukola ebyo bye mwagala. Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka. Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, obugwenyufu, obukaba, okusinza ebitali Katonda, obulaguzi, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: mbalabula nga bwenasooka okubalabula nti abo abakola ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka. N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'omululu gwagwo n'okwegomba kwagwo. Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo. Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tetukwatibwa buggya fekka na fekka. Ab'oluganda, omuntu bw'abanga alina ekibi ky'akoze, mmwe ab'omwoyo mumuluŋŋamyenga mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo. Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, so nga si bwali, aba yeerimbalimba. Naye buli muntu akeberenga omulimu gwe yekka, era n'okwenyumiriza kunaabanga mu ye yekka so si mu mulala. Kubanga buli muntu alyetikka omugugu gwe yekka. Naye oyo ayigirizibwa ekigambo agabanirenga wamu ebirungi byonna by'alina n'oyo amuyigiriza. Temulimbibwanga, Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky'asiga era ky'alikungula. Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo. Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga bwe tutakoowa, ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise. Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza. Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n'omukono gwange nze. Bonna abaagala okwewoomereza mu mubiri be babawaliriza okukomolebwanga, balemenga okuyigganyizibwa olw'omusalaba gwa Kristo. Kubanga era n'abo bennyini abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye baagala mmwe okukomolebwanga, balyoke beenyumiririzenga ku mubiri gwammwe. Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula mu musalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi. Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa, si kye kikulu, wabula okufuuka ekitonde ekiggya. N'abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda. Okuva ne kaakano, omuntu yenna aleme okunteganya; kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu n'omwoyo gwammwe, ab'oluganda. Amiina. Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, eri abatukuvu abali mu Efeso n'abakkiriza mu Kristo Yesu. Ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuweera mu Kristo buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo oguva mu bifo eby'omu ggulu; Kubanga yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu era abatalina kyakunnenyezebwa. Yatwawula edda mu kwagala okubeera abaana be okuyita mu Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okuteesa kwe, ekitiibwa eky'ekisa kye kiryoke kitenderezebwenga, kye yatuwa obuwa mu oyo Omwagalwa. Mu ye tulina okununulibwa okuyita mu musaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli, kye yasukkiriza gyetuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna. Kubanga yatumanyisa mu magezi n'okutegeera ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, okusinziira ku nteekateeka ze yategeka edda mu Kristo. Entegeka ezatuukirira mu kiseera kyazo, okugattira awamu ebintu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi. Mu oyo naffe mwe twafuukira abasika, bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akola byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe. Ffe abaasooka okusuubira mu Kristo, twategekebwa n'okulondebwa tulyoke tubeerewo olw'okutendereza ekitiibwa kye. Mu oyo nammwe, abawulira ekigambo eky'amazima, Enjiri ey'obulokozi n'okukkiriza bwe mwakkiriza, mwateekebwako envumbo ey'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa. Oyo gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe. Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, n'okwagala kwe mulaga abatukuvu bonna, kyenva sirekangayo kwebaza, nga mboogerako mu kusaba kwange. Nsaba Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikkulirwa mu kumutegeera ye. Emyoyo gyammwe bwe gibikkulibwa mulyoke mumanye essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, n'obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli. Era n'obukulu obw'amaanyi ge agasinga ennyo eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola. Ago ge yakozesa mu Kristo, bwe yamuzuukiza okuva mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu, waggulu ennyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja. N'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa, gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna. Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe, bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, omwoyo ogukola kaakano mu baana abajeemu. Naffe fenna abo be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala. Naye Katonda, kubanga ye mugagga w'ekisa, olw'okwagala kwe okungi kwe yatwagala ffe, bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa), n'atuzuukiza wamu naye, n'atutuuza wamu naye mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo Yesu. Bwatyo mu mirembe egigenda okujja alyoke alage obugagga obusinga ennyo obw'ekisa kye mu bulungi obuli gyetuli mu Kristo Yesu. Kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli, kye kirabo kya Katonda, tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu. Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono; nga mu biro biri mwali nga muli wala ne Kristo, mwali nga mubooleddwa mu kika kya Isiraeri, era mwali bannamawanga eri endagaano ez'okusuubiza, nga temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi. Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo. Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula, bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, obwali ku bipande eby'ebiragiro n'amateeka; alyoke atonde omuntu omuggya mu kifo kyebyo byombi, okuleeta emirembe. Era alyoke atabaganye byombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo. N'ajja n'ababuulira emirembe mmwe abaali ewala, era n'emirembe abo abaali okumpi; kubanga ku bw'oyo naffe tusobola okusembera eri Kitaffe mu Mwoyo omu. Kale bwe mutyo temukyali bannamawanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda. Kubanga mwazimbibwa ku musingi gw'abatume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini nga lye jjinja eddene ery'oku nsonda. Mu ye buli nnyumba yonna, bw'egattibwa obulungi, ekula okubeeranga Yeekaalu entukuvu mu Mukama waffe; era mu ye nammwe muzimbibwa wamu okubeeranga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo. Olw'ensonga eno, nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga, nsuubira nga mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa ku lwa mmwe, n'engeri ekyama ekyo gye kyantegeezebwamu mu kubikkulirwa, nga bwe n'awandiika edda mu bigambo ebitono. Bwe munaasoma bino munaamanya okutegeera kwange okw'ekyama kya Kristo. Ekyo ekitaategeezebwa baana b'abantu, mu mirembe egy'edda nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo. Eno y'engeri ab'amawanga gye babeera, abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu mu byasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'Enjiri. Olw'Enjiri eno, nnafuulibwa omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli. Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab'amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka; n'okumulisizanga bonna balabe entegeka ye kyama kino bwe kiri, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna. Kaakano ng'ayita mu kkanisa, Katonda ayagala amanyise amagezi ge amangi, eri abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu. Ekyo yakitegeka okuva edda nedda, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe. Mu ye mwe tuggya obuvumu, n'obugumu okumusemberera olw'okumukkiriza. Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe. Kyenva nfukaamirira Kitaffe, buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya, abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda. Kristo atuulenga mu mitima gyammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi, munywezebwenga mu kwagala, mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri, n'okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mujjulire ddala n'okutuukirira kwonna okwa Katonda. Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe, aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina. Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa, n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana, nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe. Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe; Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu, Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna. Naye buli muntu mu ffe yaweebwa ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri. Kyava ayogera nti, “Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.” (Naye ekigambo ekyo nti, “Yalinnya,” kitegeeza ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez'ensi? Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke ajjuze byonna). Era oyo n'awa abalala okubeera abatume, n'abalala bannabbi, n'abalala ababuulizi, n'abalala abalunda n'abayigiriza. Olw'okuteekateeka abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweereza, n'olw'okuzimba omubiri gwa Kristo, okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo. Tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba. Naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo. Mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana. Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu, nga balina ekizikiza mu magezi gaabwe, nga baabooleddwa okuva mu bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu bo, obuleetebwa okukakanyala okw'omutima gwabwe. Baafuuka bakakanyanyavu, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba. Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo; nsuubira nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu. Mweggyeko omuntu ow'edda agoberera embeera z'obulamu bwammwe ez'edda, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba; era muzzibwe abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe. Mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima. Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka. Musunguwalenga so temwonoonanga, enjuba eremenga okugwa nga mukyalina obusungu, so temuwanga bbanga Setaani. Eyabbanga alemenga okubba nate, naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga. Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe, naye ekirungi bwe kinaabangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa. So temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw'okununulibwa. Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna, era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo. Kale mufaananenga Katonda, ng'abaana abaagalwa; era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo eky'evvumbe eriwunya obulungi era ssaddaaka eri Katonda. Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, kubanga ebyo tebigwanira batukuvu. Tewaabeerangawo eby'ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby'obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana, naye waakiri wabeerengawo okwebazanga. Kubanga ekyo mukitegeerera ddala nga tewali mwenzi, oba mugwagwa, oba eyeegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira. Kale temussanga kimu nabo; kubanga edda mwali kizikiza, naye kaakano muli musana mu Mukama waffe, mutambulenga ng'abaana b'omusana (kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima), nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri. Temussanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'ekizikiza, naye waakiri mubibuulirirenga bubuulirizi; kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama. Naye ebigambo byonna, bwe bibuulirirwa, omusana gubirabisa, kubanga buli ekirabisibwa gwe musana. Kyava ayogera nti, “Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.” Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng'abatalina magezi, naye ng'abalina amagezi; nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi. Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri. So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo; nga mwogereganyanga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe. Mwebazanga Katonda Kitaffe ennaku zonna olwa byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. Muwuliraganenga olw'okussamu Kristo ekitiibwa. Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, omubiri gwe, era nga ye yennyini ye mulokozi waayo. Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo. Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo; alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo. Alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu, eteriiko bulema. Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka. Kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjanjaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa; kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu. Ekyama kino kikulu, naye njogera ku Kristo n'ekkanisa. Naye era nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi assengamu bba ekitiibwa. Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga kino kye kituufu. “Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko” (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza), “olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.” Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe, naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe. Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omubiri nga mulina okutya n'okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, nga Kristo; si nga mu kuweereza okw'okungulu, ng'abaagala okusiimibwanga abantu; naye ng'abaddu ba Kristo, nga mukolanga n'omwoyo Katonda by'ayagala. Muweerezenga n'okwagala, ng'abaweereza Mukama waffe so si bantu; nga mumanyi nti buli muntu ekirungi ky'akola, ky'aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe. Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa, nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy'ali. Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge. Mwambalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani. Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu. Kale mutwalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira. Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu, era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'Enjiri ey'emirembe. Era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi. Muweebwe ne sseppewo ey'obulokozi, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda. Musabenga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n'okwegayiriranga kwonna. Mutunulenga n'okugumiikiriza nga musabiranga abatukuvu bonna. Nange munsabire buli lwenayasamyanga akamwa kange ndyoke mpeebwe okwogeranga, n'okutegeezanga n'obuvumu ekyama eky'Enjiri. Eyo nze gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga. Naye nammwe mulyoke mutegeere ebifa gye ndi bwe biri, Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe alibategeeza byonna. Mmutumye gye muli olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gyetuli, era asanyuse emitima gyammwe. Emirembe gibenga eri ab'oluganda, n'okwagala awamu n'okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. Ekisa kibeerenga n'abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n'okwagala obutaggwaawo. Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, eri abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, wamu n'abalabirizi n'abaweereza, ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu, olw'okuba nga okuviira ddala ku lubereberye n'okutuusa kaakano muli wamu nange mu mulimu ogw'okubunya Enjiri. Era nkakasiza ddala ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo. Kirungi ddala nze okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundi mu mutima gwange, kubanga mwenna mugabana awamu nange mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwolerezanga Enjiri n'okuginywezanga. Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, kubanga alaba nga bwe mbayaayaanira n'okwagala kwa Kristo Yesu. Era kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongerere ddala, nga kulimu okutegeera n'okwawula kwonna, mulyoke musiimenga ebisinga obulungi; mubeerenga abalongoofu era abataliiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku lwa Kristo; nga mujjudde ebibala eby'obutuukirivu, ebiyita mu Yesu Kristo, olw'ekitiibwa n'okutendereza Katonda. Naye njagala mmwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaako byongedde bwongezi kubunya bubunya njiri; era kino kiretedde abasserikale abakuuma kabaka, wamu n'abalala bonna okutegeera nti nnasibibwa lwa Kristo, n'ab'oluganda bangi okusibwa kwange kwongedde okubagumya, era beeyongedde okufuna obuvumu okubuulira ekigambo kya Katonda nga tebatya. Abalala babuulira Kristo lwa buggya n'akuvuganya, naye abalala babuulira lwa bulungi. Bano babuulira lwa kwagala, nga bamanyi nga nnateekebwawo lwa kuwolerezanga Enjiri; naye bali babuulira Kristo lwa kwawula, si mu bwesimbu, nga balowooza nga banaayongera okundeetera ennaku mu busibe bwange. Naye n'ekyo nsonga? Mu ngeri zonna, oba za bukuusa oba za mazima, Kristo abuulirwa, nze n'emw'ekyo nsanyuka busanyusi. Ddala nteekwa okusanyuka, kubanga mmanyi nti olw'okusaba kwammwe, n'olw'obuyambi bw'Omwoyo wa Kristo, ndisumululwa. Kino kye nduubirira era kye nsuubira nti ssirikwatibwa nsonyi mu kigambo kyonna, naye nja kuba muvumu nga bulijjo, Kristo, agulumizibwe mu mubiri gwange, oba mu bulamu oba mu kufa. Kubanga nze mba mulamu lwa Kristo, ate ne bwe nfa ngobolola. Naye oba ng'okuba omulamu mu mubiri, kye kibala eky'okufuba kwange, kale ssimanyi kye nneeroboza. Naye nyigirizibwa eruuyi n'eruuyi, nga nneegomba okugenda okubeera ne Kristo, kubanga ekyo kye kisingako obulungi. Naye okubeera mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe. Kino nkikakasa kubanga ntegeeredde ddala nga nja kuba nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okukula, n'okusanyukira mu kukkiriza, bwe ndikomawo nate gye muli, mulyoke mweyongere okwenyumiririza Kristo Yesu ku lwange. Naye kyokka embeera z'obulamu bwammwe, zibeere nga bwe kigwanira Enjiri ya Kristo, bwe ndijja okubalabako oba nga ssiriiwo, ndyoke mpulire ebifa gye muli, nga munywedde mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okukkiriza okw'Enjiri n'emmeeme emu; era nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonna, kabeere akabonero ddala gyebali ak'okuzikirira, naye eri mmwe ka bulokozi, obuva eri Katonda; kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo ekisa, si kya kumukkiriza kwokka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe. Muli mu lutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira nga nkyaluliko. Kale oba nga waliwo okubazamu amaanyi kwonna mu Kristo, oba okusikiriza kwonna okw'okwagala, oba okussa ekimu kwonna mu Mwoyo, oba okwagala okw'engeri yonna n'okusaasira, mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu, nga mulowooza bumu. Temukolanga kintu kyonna lwa kweyagaliza mwekka, oba mu bukuusa, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka. Buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye buli omu ng'afaayo ne ku by'abalala. Mmwe mubeemu okulowooza okwo, okwali mu Kristo Yesu, ye newakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, teyeerowooza kwenkanankana na Katonda, naye yeeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'azaalibwa ng'omuntu. Era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba. Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; nti olw'erinnya lya Yesu, buli vviivi lifukaamire, ery'abo abali mu ggulu n'abali ku nsi n'abali wansi w'ensi, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa. Kale, abaagalwa bange, nga bwe mubadde abawulize bulijjo nga ndi nammwe, naye kaakano nga ssiriiwo, mweyongere okuba abawulize. Mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana; kubanga Katonda akolera mu mmwe, yabaagazisa era n'abasobozesa n'okukola, by'asiima. Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka; mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettaala mu nsi, ngamunywezeza ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere, so ssaafubira busa. Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nammwe mwenna: era nammwe bwe mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange. Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli. Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebyammwe mu mazima. Kubanga abo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo. Naye Timoseewo mumanyi nga bw'asaanira, kubanga yaweerezanga wamu nange olw'Enjiri, ng'omwana eri kitaawe. Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga ntegedde embeera nga bwe n'ebeera gye ndi, naye nange nsuubira mu Mukama waffe nti ndijja mangu. Era ndabye nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga; kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nnyo, kubanga mwawulira nga yalwala: Ddala okulwala yalwala era yali kumpi n'okufa, naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku n'eteenneeyongera. Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyoke musanyuke, nange nkendeeze ku kunakuwala kwange. Kale mu mwanirize mu Mukama waffe n'essanyu lingi, era abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa, kubanga yabulako katono okufa olw'omulimu gwa Kristo, bwe yawaayo obulamu bwe ng'akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange. Eky'enkomerero, ab'oluganda, musanyukirenga Mukama waffe. Okuddamu okubawandiikira ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya nze, naye kirungi eri mmwe. Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakola ebibi, mwekuumenga abekomola omubiri. Kubanga ffe bakomole abatuufu, abasinza Katonda mu Mwoyo, era abeenyumiririza mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri. Newakubadde nga nze nnyinza okuba n'ensonga okwesiga omubiri: omuntu omulala yenna bw'alowooza okwesiga omubiri, nze mmusinga: nze nnakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka ndi Mufalisaayo; mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa. Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo. Naye era n'ebintu byonna mbirowooza nga kufiirwa olw'omuwendo omungi ogusinga oguli mu kutegeera Kristo Yesu Mukama wange, ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera nga mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo, era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina butuukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza: ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe era n'okugabana ku bibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe; era bwe kiba kiyinzika nfune okuzuukira mu bafu. Si kugamba nti mmaze okukifuna oba nti mmaze okutuukirira, naye nfuba okukifuna, kubanga Kristo Yesu yanfuula owuwe. Ab'oluganda, ssirowooza nga mmaze okukifuna, naye ekintu kimu kye nkola, kwe kwerabira ebyo ebiri emabega, nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso, nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu. Kale ffe fenna abakuze mu mwoyo, tulowoozenga ekyo: naye oba nga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikulira, naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko. Ab'oluganda, mukkirize okundabirako, era mugobererenga abo abatambula nga ffe be mulina nga ekyokulabirako. Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo, enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi. Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo: aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we. Kale, ab'oluganda abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa. Nneegayirira Ewodiya, era nneegayirira Suntuke, bakkiriziganye mu Mukama waffe. Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde yamba abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw'enjiri nga tuli ne Kulementi, ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu. Musanyukirenga mu Mukama waffe ennaku zonna, nate njogera nti Musanyukenga. Abantu bonna balabenga obugumiikiriza bwammwe. Mukama waffe ali kumpi. Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna nga musaba n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga, bye mwagala bitegeezebwenga Katonda. N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaakuumanga emitima gyammwe n'amagezi gammwe mu Kristo Yesu. Eky'enkomerero, ab'oluganda, oba nga waliwo eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga. Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe. Nsanyuse nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw'ebbanga muzzeemu okulowooza ku byange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga. Ssoogera kino olw'okubanga ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nnayiga okumalibwa. Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu. Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi. Naye mwakola bulungi okulumirirwa awamu nange mu bibonoobono byange. Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga bwe nnava e Makedoni nga nnakatandika okubuulira Enjiri, tewali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka; kubanga era ne bwe nali mu Ssessaloniika mwampeereza eby'okunyamba emirundi ebiri. Ssoogera kino kubanga njagala kufuna kirabo, naye nnoonya ekibala ekyeyongera ku muwendo gwammwe. Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, olw'ebyo Epafulodito byeyaleeta ebyava gye muli, biringa evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda. Era Katonda wange anaatuukirizanga buli kye mwetaaga, ng'obugagga bwe obungi obw'ekitiibwa bwe buli obuli mu Kristo Yesu. Era Katonda waffe era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Mulamuse buli mutukuvu mu Kristo Yesu. Ab'oluganda abali nange babalamusizza. Abatukuvu bonna babalamusizza, naye okusinga ab'omu nnyumba ya Kayisaali. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe. Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe. Buli bwe tubasabira twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n'okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna, olw'essuubi eryabaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky'amazima ag'Enjiri, eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya Katonda mu mazima; nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu munnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe, era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo. Naffe kyetuva tetulekaangayo kubasabira okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, nga tubeegayiririra mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo, era mutambulenga nga bwe kisaanira Mukama, nga mumusanyusa, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mweyongeranga mu kutegeera Katonda. Kale munywezebwenga n'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka; nga mwebaza Kitaffe, eyatusaanyiza ffe omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana, eyatulokola mu buyinza obw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka obw'Omwana we omwagalwa; mwe tubeerera n'okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw'ebibi byaffe. Oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna; kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba buyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye, era ku lulwe. Naye ye yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe bibeereraawo. Era oyo gwe mutwe gw'omubiri, ye kkanisa: oyo lwe lubereberye, omubereberye ow'omu bafu; ye alyoke abeerenga waggulu wa byonna. Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye; era nga ayita mu ye okutabaganya ebintu byonna eri ye yennyini, oba ku nsi oba mu ggulu, bwe yaleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe. Nammwe, mmwe abali beeyawudde ku Katonda, era abalabe mu kulowooza kwammwe, nga mukola ebikolwa ebibi, naye kaakano abatabaganyiza mu mubiri gw'ennyama ye olw'okufa kwe, alyoke abanjule abatukuvu era abatalina kya kunenyezebwa era abataliiko bbala mu maaso ge, kasita mweyongera okubeera mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa ebitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo. Kaakano nsanyukira mu bibonoobono byange ku lwammwe, era mu mubiri gwange ntuukiriza ebyo ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo olw'omubiri gwe, ye kkanisa; nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda, ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kibikuliddwa abatukuvu be, Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa obw'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa: gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo. Olw'ekyo nfuba n'amaanyi gonna gatadde mu ngeri ey'ekitalo mu nze. Kubanga njagala mmwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nnina ku lwammwe n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonna abatalabanga maaso gange mu mubiri; emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo, mu ye obugagga bwonna obw'amagezi n'obw'okutegeera mmwe bukwekeddwa. Kino nkibategeeza waleme kubaawo omuntu yenna abakyamya n'ebigambo ebisendasenda. Kubanga newakubadde nga ssiriiyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi nammwe, nga nsanyuka era nga ndaba empisa zammwe ennungi, n'obunywevu obw'okukkiriza kwammwe mu Kristo. Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye, nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza. Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, n'ebiyigirizibwa abantu mu buwangwa bwabwe bo, n'okugoberera emyoyo egy'ensi, okutali kugoberera Kristo. Kubanga mu oyo mu mubiri mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'Obwakatonda, era mwafuna obulamu obujjuvu mu ye, ye gwe mutwe ogw'obufuzi n'obuyinza bwonna, era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutali bwa mikono, bwe mwayambula omubiri mu kukomolebwa kwa Kristo; bwe mwaziikibwa awamu naye mu kubatizibwa, era mmwe mwazuukirira awamu naye olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu. Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna; era n'aggyawo endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatuwalirizanga okutuukiriza ebiragiro byayo, bwe yagikomerera ku musalaba; kwe yayambulira ddala abafuzi n'ab'obuyinza, n'abawemuukiriza mu lwatu, n'abawangulira ddala. N'olwekyo tewabangawo omuntu yenna abasalira musango mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti. Kubanga ebyo kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye eky'omugaso ye Kristo. Omuntu yenna tabanyagangako mpeera yammwe mu kwewombeeka kw'ayagala yekka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywerera mu ebyo bye yalaba, nga yeegulumiririza bwereere mu magezi ag'omubiri gwe, so nga teyeekwase Mutwe, omuva omubiri gwonna, ennyingo n'ebinyweza nga biguleetera era nga bigugatta wamu, nga gukula n'okukuza kwa Katonda. Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka emyoyo gyonna egy'ensi, lwaki ate mweyisa nga abakyafugibwa eby'ensi? nti, “Tokwatangako, so tolegangako, so tokomangako,” ebyo byonna biriggwaawo, era okwo tekuba kugoberera biragiro n'okuyigiriza kw'abantu? Ebyo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri ey'okusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono mu kufuga okwegomba kw'omubiri. Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. Mulowoozenga ku by'omu ggulu, so si ebiri ku nsi. Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda. Kristo, obulamu bwaffe, bw'alirabisibwa, era nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa. Kale mufiise eby'ensi mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi; olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira; era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwabikolanga ebyo. Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, era n'okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe. Temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye, ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda. Awo waba tewakyali kwawula Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n'ataakomolebwa, munnaggwanga n'Omusukusi, omuddu n'ow'eddembe, naye Kristo bye bintu byonna era yali mu byonna. Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe musonyiwaganenga. Ku ebyo byonna era mwambalireko okwagalana, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna. Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza. Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga mwebaza Katonda mu mitima gyammwe. Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe nga muyita mu ye. Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe. Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakambuwaliranga. Abaana, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kisanyusa Mukama. Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira mu mwoyo. Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu nsi mu byonna, si kubasanyusa kubanga ba balaba, naye mubagonderenga n'omutima ogutalimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. Buli kye mukola mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abakolera Mukama waffe, so si abantu; nga mumanyi nga mulisasulibwa Mukama waffe empeera ey'obusika; muweereza Mukama waffe Kristo. Kubanga ayonoona alisasulwa nga bwe yayonoona, so tewaliba kusaliriza. Bakama b'abaddu, muyisenga mu bwenkanya abaddu bammwe, nga mumanyi nga nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu. Munyiikirirenga mu kusaba, nga mulindirira n'okwebaza; era naffe mutusabire, Katonda okutuggulirawo oluggi olw'ekigambo, okutegeeza ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nnasibirwa; ndyoke nkitegeeze bulungi nga bwe kiŋŋwanidde okwogera. Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ebweru, nga mukozesa bulungi ekiseera kye mulina. Ebigambo byammwe bibeerenga n'ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna. Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe, alibategeeza ebinfaako byonna. Kyenva mmutuma gye muli olw'ensonga eyo, mulyoke mutegeere ebifa gyetuli era asanyuse emyoyo gyammwe; wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omwagalwa, ow'ewammwe. Balibategeeza byonna ebifa eno. Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako bw'alijja gye muli, mumwanirizanga, ne Yesu ayitibwa Yusito babalamusizza. Abo be b'omu bakomole bokka, bakozi bannange mu bwakabaka bwa Katonda, abanzizaamu essuubi. Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna okubasabira mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala. Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw'afuba ennyo ku lwammwe, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli. Lukka, omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza. Mulamuse ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu mmwe, mulabe nga esomerwa n'ab'ekkanisa y'omu Lawodikiya; era nammwe musome eriva e Lawodikiya. Era mugambe Alukipo nti, “Laba ng'otuukiriza okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe.” Nze Pawulo, nze mpandiise okulamusa kuno n'omukono gwange. Mujjukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibeerenga nammwe. Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe. Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe; nga tujjukira bulijjo mu maaso ga Katonda, omulimu gwammwe ogw'okukkiriza, n'okufuba okw'okwagala, n'okugumiikiriza okw'essuubi lyammwe mu Mukama waffe Yesu Kristo. Kubanga tumanyi, ab'oluganda abaagalwa Katonda, nga yabalonda, kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe. Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, kubanga mwafuna ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu. Bwe mutyo ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Makedoni ne mu Akaya. Kubanga gye muli ye yava eddoboozi ly'ekigambo kya Mukama waffe, si mu Makedoni ne mu Akaya yokka, naye mu buli kifo okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna; bwe tutyo ne tutabaako kigambo kye twetaaga okwogera. Kubanga bo bokka bategeeza ebitukwatako, bwe mwatwaniriza bwe twajja; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima, n'okulindiriranga Omwana we okuva mu ggulu, gwe yazuukiza mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obugenda okujja. Kubanga mmwe mwennyini ab'oluganda, mumanyi ng'okukyala kwaffe gye muli tekwali kwa bwereere. Newakubadde nga twali tumaze okubonaabona n'okugirirwa ekyejo mu Firipi, nga bwe mumanyi, twagumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kuwakanyizibwa okungi. Kubanga okubuulirira kwaffe si kwa bulimba, so si kwa bugwagwa, so tekukolebwa mu bukuusa; naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda okuteresebwa enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng'abaagala okusiimibwa abantu, wabula Katonda akema emitima gyaffe. Kubanga tetukozesanga wadde bigambo bya kubawaanawaana, nga bwe mumanyi, oba okukisa okwegomba kwaffe, Katonda ye mujulirwa. Tetunoonyanga kitiibwa okuva eri abantu, oba mmwe, wadde okuva eri abalala, newakubadde twandiyinzizza okukibasaba ng'abatume ba Kristo. Naye twali bawombeefu mu mmwe, nga maama bw'alabirira abaana be. Olw'okubalumirwa omwoyo bwe tutyo, twetegeka okugabana nammwe si njiri ya Katonda yokka, naye era n'emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo. Kubanga mujjukira, ab'oluganda, okufuba kwaffe n'okutegana, bwe twakolanga emirimu emisana n'ekiro, obutazitoowereranga muntu yenna ku mmwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda. Mmwe bajulirwa era ne Katonda, bwe twabanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awatali kya kunenyezebwa mu mpisa zaffe eri mmwe abakkiriza. Mumanyi nga taata bwaba n'abaana be, naffe bwe twali nammwe, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tubakubiriza, mulyoke mutambulenga nga bwe kisaanira Katonda abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ne mu kitiibwa kye. Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwafuna ekigambo kya Katonda, kye mwawulira okuva gyetuli, mwakikkiriza si ng'ekigambo ekya bantu, naye nga ddala kiri ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza. Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwafaanana ekkanisa za Katonda Kristo Yesu eziri mu Buyudaaya, kubanga nammwe mwabonyaabonyezebwa bwe mutyo ab'eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya; abatta Mukama waffe Yesu ne bannabbi, era naffe abaatugoba, ne banyiiza Katonda, era balabe b'abantu bonna. Era baatuziyiza okubuulira ab'amawanga balyoke balokoke; bwe batyo ne bongera ku bibi byabwe eby'edda, naye obusungu bwa Katonda bubatuuseeko ku nkomerero. Naye ffe, ab'oluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono, mu maaso si mu mutima, tweyongera nnyo okufuba okubalaba mu maaso gammwe n'okubalumirwa ennyo omwoyo, kubanga twayagala okujja gye muli, nze Pawulo omulundi ogwolubereberye era n'ogwokubiri; naye Setaani n'atuziyiza. Kubanga essuubi lyaffe, oba essanyu lyaffe, oba ngule ki ey'okwenyumiriza kwaffe mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe? Si ye mmwe? Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe n'essanyu lyaffe. Bwe tutaayinza kwongera kugumiikiriza, kyetwava tulowooza okulekebwa fekka emabega mu Asene. Era ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubagumya mu kukkiriza kwammwe; omuntu yenna aleme okusagaasagana olw'okubonaabona kuno; kubanga mwekka mumanyi ng'ekyo kye twateekerwawo. Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi. Olw'ensonga eno, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, kyennava ntuma, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe bwe kuli, nga ntya nti mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere. Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gyetuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe; olw'ekyo ab'oluganda, mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna, tuzibwamu nnyo amaanyi olw'okukkiriza kwammwe. Kubanga kaakano tuli balamu, mmwe bwe muyimirira nga muli banywevu mu Mukama waffe. Kubanga kwebaza ki kwe tuyinza okusasula Katonda ku lwammwe, olw'essanyu lyonna lye tusanyuka ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe; emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gammwe, n'okutuukiriza ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe? Naye Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. Nammwe Mukama waffe abongerengako era abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka, n'okwagalanga abantu bonna, era nga naffe bwe tubaagala mmwe. Alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kya kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna. Eky'enkomerero, ab'oluganda, tubeegayirira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwatuyigirako bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula, mweyongerenga bwe mutyo. Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabawa ku bwa Mukama waffe Yesu. Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi; buli muntu ku mmwe ateekwa okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa. Temufugibwanga mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda. Omuntu yenna alemenga okwonoona muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo, kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okubategeereza ddala. Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula kubeera mu butukuvu. Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu. Naye ebikwata ku by'okwagalanga ab'oluganda, temwetaaga muntu yenna kubawandiikira, kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. Kubanga ddala mwagala ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira; era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira. Mulyoke mubenga n'ekitiibwa eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga. Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi. Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alikomyawo bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye. Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka. Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda, n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira. Naffe abaliba bakyali abalamu ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino. Naye eby'entuuko n'ebiro, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandiikirwa. Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi bw'ajja ekiro. Bwe baliba nga boogera nti, “Mirembe, tewali kabi,” okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono. Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi: kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana, tetuli ba kiro newakubadde ab'ekizikiza. Kale nno tulemenga okwebaka ng'abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira. Kubanga abeebaka beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro. Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, era twambale eky'omu kifuba okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi. Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatufiirira ffe, bwe tutyo bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye. Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola. Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira; n'okubassangamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe. Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna. Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna. Musanyukenga ennaku zonna; musabenga obutayosa; mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna, kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli. Temuzikizanga Mwoyo; temunyoomanga bunnabbi. Mugezese ebintu byonna, munywerezenga ddala ekirungi; mwewalenga buli ngeri ya bubi. Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola. Ab'oluganda, mutusabirenga. Mulamuse ab'oluganda bonna n'okunywegera okutukuvu. Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonna. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe. Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo; ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu kw'alina eri munne kweyongera. Naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona bye mugumira. Ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera. Kuba ddala kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abo abababonyaabonya, era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okuwummula awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika be ab'obuyinza mu muliro ogwaka. Aliwalana eggwanga ku abo abatamanyi Katonda, n'abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu. Balibonerezebwa, n'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, n'okugobebwa okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge. Bw'alijja ku lunnaku olwo okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli. Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu gwe mukola olw'okukkiriza mu maanyi ge. Bwerityo erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri. Kaakano ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okukuŋŋaana kwaffe okumusisinkana, tubeegayirira ab'oluganda, obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw'omwoyo, newakubadde olw'ebbaluwa efaanana ng'evudde gyetuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse. Omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna; kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira, aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu Yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda. Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nnababuulira ebyo? Era ne kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkulwe mu ntuuko ze. Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola, wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo. Awo omujeemu oli n'alyoka abikkulwa, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kwe n'okujja kwe. Naye okujja kw'oyo atakwata mateeka, olw'okukola kwa Setaani kulijja n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obulimba, n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga bagaana okwagala amazima, balyoke balokoke. Katonda kyava abasindikira okukyamya okw'amaanyi, bakkirize eby'obulimba, bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu. Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima. Kino yakibayitira okuyita mu njiri yaffe, mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. Kale nno, ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe. Naye Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungi mu kisa, abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi. Eky'enkomerero, ab'oluganda, mutusabirenga ekigambo kya Mukama waffe kibune mangu, era kiweebwenga ekitiibwa, era nga bwe kyali mu mmwe. Era mutusabire, tulokolebwe okuva mu bantu abatalina magezi era ababi; kubanga okukkiriza si kwa bonna. Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza, era anaabakuumanga eri omubi. Era twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye twabalagira era munaabikolanga. Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo. Era tubalagira, ab'oluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi, newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe. Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga, kubanga tetwali bagayaavu bwe twali nammwe, so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n'okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe; si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'eky'okulabirako mulyoke mutugobererenga. Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bw'agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga. Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala. Abali bwe batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo, okukolanga emirimu n'obuteefu balyoke balyenga emmere yaabwe bo. Naye mmwe, ab'oluganda, temukoowanga mu kukola obulungi. Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate. So temumulowoozanga nga mulabe, naye mumubuuliriranga ng'ow'oluganda. Era Mukama waffe ow'emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna. Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna, bwe ntyo bwe mpandiika. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Pawulo, omutume wa Kristo Yesu ng'okulagira kwa Katonda Omulokozi waffe bwe kuli n'okwa Kristo Yesu essuubi lyaffe; eri Timoseewo omwana wange ddala olw'okukkiriza. Ekisa, okusaasira, n'emirembe bibenga gy'oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe. Nga bwe nnakubuulirira okubeera mu Efeso, bwe nnali nga ŋŋenda e Makedoni, olagirenga abamu obutayigirizanga bulala, newakubadde okulowoozanga enfumo n'ebigambo eby'obuzaale ebitakoma, ebireeta empaka mu kifo ky'okuyigiriza kw'obwa Katonda okuli mu kukkiriza. Ekigendererwa ky'ekiragiro kyaffe kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu n'omwoyo omulungi n'okukkiriza okutalina bukuusa. Ebyo abantu abamu babiwunjukamu ne bakyamira mu bigambo ebitaliimu; nga baagala okuba ng'abayigiriza b'amateeka, nga tebategeera bye boogera newakubadde bye bakakasa. Naye tumanyi ng'amateeka malungi, omuntu bw'agakozesa mu butuufu bw'ago, ng'atutegeera kino nti, amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibi, abatali batukuvu n'abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b'abantu, abenzi, abalya ebisiyaga, abanyazi b'abantu, abalimba, abalayirira obwereere, n'ebirala byonna ebiwakana n'okuyigiriza okw'obulamu, ng'Enjiri bw'eri ey'ekitiibwa kya Katonda eyeebazibwa gye nnateresebwa. Mmwebaza oyo eyampa amaanyi, ye Kristo Yesu Mukama waffe, kubanga yandowooza nga ndi mwesigwa, bwe yanteeka mu buweereza, olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow'ekyejo; naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza. Ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo gyendi wamu n'okukkiriza n'okwagala okuli mu Kristo Yesu. Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubereberye. Naye kyennava nsaasirwanti mu nze asinga obubi mu boonoonyi, Yesu Kristo mwayinza okulabisiza okugumiikiriza kwe kwonna, okunaabeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw'obulamu obutaggwaawo. Era Kabaka ow'emirembe n'emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga ettendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Ekiragiro kino nkikuteresa, mwana wange Timoseewo, ng'ebigambo bya bannabbi bwe byali bye baakwogerako edda, olyoke olwanirenga mu byo olutalo olulungi, ng'onyweza okukkiriza n'omwoyo omulungi, abalala gwe basindika eri ne bamenyekerwa okukkiriza kwabwe. Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda, be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga. Kale okusooka byonna mbabuulirira okwegayiriranga n'okusabanga n'okutakabananga n'okwebazanga bikolebwenga ku lw'abantu bonna; ku lwa bakabaka n'abakulu bonna; tulyoke tubeerenga n'obulamu obutereevu obw'emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza. Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda, ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima. Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu, eyeewaayo abe omutango olwa bonna; obujulizi bwakyo obwalabisibwa mu ntuuko zaabwo. Olwa kino, nze nnateekebwawo okuba omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), Omuyigiriza w'amawanga olw'okukkiriza n'amazima. Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka. Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi; naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n'ebikolwa ebirungi. Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna. Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa; era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona, naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiriranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza. Kyesigwa ekigambo ekyo nti, Omuntu bw'ayagalanga obulabirizi, yeegomba mulimu mulungi. Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, ayigiriza; si mutamiivu, si mukambwe; naye omuwombeefu, si muyombi era atalulunkanira nsimbi; afuga obulungi ennyumba ye ye, akuuma abaana be nga bawulize, era nga balina ekitiibwa. Kubanga omuntu bw'atamanya kufuga nnyumba ye ye, ayinza atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? Tasaana kuba oyo eyaakakyuka, alemenga okwekulumbaza si kulwa nga agwa mu musango gwa Setaani. Era nate kimugwanira okubeeranga n'okutegeezebwa okulungi eri abo ab'ebweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani. Bwe batyo n'abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatafugibwa mwenge, abatalulunkanira bintu olw'amagoba; nga bakuuma ekyama eky'okukkiriza mu mwoyo omulungi. Era nate abo basookenga okugezesebwa, balyoke baweereze, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. Bwe batyo n'abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, abeesigwa mu byonna. Abaweereza babeerenga basajja ba mukazi omu, nga bafuga abaana baabwe obulungi n'ennyumba zaabwe bo. Kubanga abamala okuweereza obulungi beefunira obukulu obulungi n'obugumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu. Nkuwandiikidde ebyo nga nsuubira okujja gy'oli mangu; naye bwe ndwanga olyoke obe ng'omanyi bwe kigwana okukolanga mu nnyumba ya Katonda, ye kkanisa ya Katonda omulamu, empagi n'omusingi eby'amazima. Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'akkirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa. Naye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n'okuyigiriza kwa basetaani, olw'obunnanfuusi bw'abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe ng'ekyuma ekyokya. Abo bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima. Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, so siwali kya kusuula bwe kitoolebwa n'okwebaza, kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n'okusaba. Bw'onojjukizanga ab'oluganda ebyo, onoobanga muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okukkiriza n'eby'okuyigiriza okulungi kwe wagoberera. Naye enfumo ezitali za ddiini ez'obusirusiru z'oba olekanga. Weemanyiizenga okutya Katonda, kubanga okwemanyiiza kw'omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa kaakano n'obw'obugenda okujja. Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okukkirizibwa kwonna. Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, okusinga w'abakkiriza. Lagiranga ebyo obiyigirizenga. Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kyakulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga, mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu. Okutuusa lwe ndijja, nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okuyigirizanga. Tolekanga kirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa olw'obunnabbi awamu n'okuteekebwako emikono gy'abakadde. Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; bonna balabenga ng'ogenda mu maaso. Weekuumenga wekka n'okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola wekka era n'abo abakuwulira. Tonenyanga mukadde, naye omubuuliriranga nga kitaawo; abavubuka nga baganda bo, abakazi abakadde nga nnyoko; n'abakazi abato nga bannyoko mu bulongoofu bwonna. Obawenga ekitiibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala. Naye nnamwandu yenna bw'aba n'abaana oba bazzukulu, basookenga okuyiga okwegendereza eri ab'omu nnyumba zaabwe, n'okusasula bakadde baabwe, kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda. Naye abeera nnamwandu ddala n'alekebwa yekka, asuubira Katonda, n'anyiikiranga mu kusaba n'okwegayiriranga emisana n'ekiro. Naye oyo awoomerwa ebinyumu ng'afudde newakubadde ng'akyali mulamu. Era n'ebyo obalagire, balemenga okubaako eky'okunenyezebwa. Naye omuntu yenna bw'atajjanjaba babe, n'okusinga ab'omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza. Nnamwandu yenna tawandiikibwanga nga tannatuusa myaka nkaaga (60), eyafumbirwa omusajja omu, asiimibwa mu bikolwa ebirungi; oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga ababonaabona, oba nga yagobereranga nnyo buli kikolwa ekirungi. Naye bannamwandu abakyali abato obagaanenga, kubanga bwe balikabawala eri Kristo, nga baagala okufumbirwa; bwe batyo ne bazza omusango kubanga basuula okukkiriza kwabwe okw'olubereberye. Era ate bayiga okubeeranga abagayaavu, nga baatambulatambula okubuna amayumba; naye tebagayaala bugayaazi, era naye balina olugambo n'akajanja, nga boogera ebitasaana. Kyenva njagala abakyali abato bafumbirwenga, bazaalenga abaana, bafugenga ennyumba zaabwe, balemenga okuwa omulabe ebbanga w'ayima okutuvuma. Kubanga waliwo kaakano abakyamye okugoberera Setaani. Omukazi yenna akkiriza bw'abanga ne bannamwandu, abayambenga, era ekkanisa eremenga okuzitoowererwa, eryoke eyambenga bannamwandu ddala ddala. Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, naddala abo abafuba mu kubuulira ekigambo n'okuyigiriza. Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano.” Era nti, “Akola emirimu asaanira empeera ye.” Tokkirizanga kiroope ku mukadde awatali bajulirwa babiri oba basatu. Aboonoona obanenyezanga mu maaso g'abantu bonna, era n'abalala balyoke batyenga. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awatali kusaliriza, nga tokola kigambo olw'obuganzi. Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by'abantu abalala, weekuume obeerenga mulongoofu. Tonywanga mazzi gokka, naye onywanga ne ku mwenge katono olw'olubuto lwo n'olw'okulwalalwala. Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango; era n'abalala birabika luvannyuma. Era bwe kityo n'ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; bwe kitaba bwe kityo era tebirirema kwolesebwa. Abali mu kikoligo ky'obuddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa. Abo abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abagasibwa mu kuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga. Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, era nga takkiriza bigambo bya bulamu, ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugoberera okutya Katonda; nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambizi empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, n'okuwayiriza, awamu n'okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda kwe kufuna amagoba. Naye okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga ge magoba amangi, kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, era tetuyinza kuggyamu kintu. Naye bwe tuba n'emmere n'eby'okwambala, ebyo binaatumalanga. Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira. Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna; waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi. Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo, ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuwombeefu. Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato; weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo. Kuno kuliragibwa mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami; alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba, aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina. Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo; bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu. Olwo banaabanga beeterekera eky'okunsinzirako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala. Ayi Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n'okuwakana kw'ebigambo bye beerimba nti magezi. Waliwo abantu abeegamba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe. Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ng'okusuubiza bwe kuli okw'obulamu obuli mu Kristo Yesu, eri Timoseewo, omwana wange omwagalwa; ekisa, okusaasira, n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe. Nneebaza Katonda gw'empeereza mu mwoyo omulungi, era nga bajjajjange bwe baakola, bwe nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange. Bwe nzijukira amaziga go, neegomba emisana n'ekiro okukulaba ndyoke njijule essanyu. Nzijukizibwa okukkiriza kwo okutaliimu bukuusa, okukkiriza okwabeeranga olubereberye mu jjajjaawo Looyi ne mu nnyoko Ewuniike, era ntegeeredde ddala nga kuli ne mu ggwe. Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe olw'okuteekebwako emikono gyange. Kubanga Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaanyi era ogw'okwagala era ogw'okwegenderezanga. Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we, naye obonyaabonyezebwanga wamu n'Enjiri ng'amaanyi ga Katonda bwe gali; eyatulokola n'atuyita okuyita okutukuvu, si ng'ebikolwa byaffe bwe biri, wabula okumalirira kwe ye n'ekisa bwe biri, kye twaweerwa mu Kristo Yesu emirembe n'emirembe nga teginnabaawo. Naye kaakano kirabisibwa olw'okwolesebwa kw'Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyaggyawo okufa n'aleeta obulamu n'obutafa mu kitangaala okuyita mu njiri, gye nnateekerwawo okuba omubuulizi era omutume era Omuyigiriza. Era kyenva mbonaabona bwe ntyo, naye sikwatibwa nsonyi; kubanga mmanyi gwe nnakkiriza, ne ntegeerera ddala ng'ayinza okukuumanga kye nnamuteresa okutuusa ku lunaku luli. Nywezanga ekyokulabirako eky'ebigambo eby'obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kukkiriza ne mu kwagala okuli mu Kristo Yesu. Ekintu ekirungi kye wateresebwa okikuumenga n'Omwoyo Omutukuvu, abeera mu ffe. Kino okimanyi nga bonna abali mu Asiya bankuba amabega; ku abo ye Fugero ne Kerumogene. Mukama waffe asaasire ennyumba ya Onesifolo, kubanga yampummuzanga emirundi mingi, so teyakwatirwa nsonyi lujegere lwange, naye bwe yali mu Ruumi n'anyiikira okunnoonya n'okulaba n'andaba. (Mukama waffe amuwe okulaba okusaasirwa eri Mukama waffe ku lunaku luli), era n'okuweereza kwonna kwe yaweerezanga mu Efeso, ggwe okutegeera bulungi nnyo. Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala. Bonaaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu. Tewali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika okuba omulwanyi. Naye era omuntu bweyetaba mu mbiro ez'empaka, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa. Omulimi akola emirimu n'amaanyi yasaana okusooka okutwala ku bibala. Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna. Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow'omu zzadde lya Dawudi, ng'enjiri yange bw'eyogera; Enjiri eyo gye mbonaaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng'akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa. Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune okulokoka okuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo. Ekigambo kino kyesigwa nti, “Oba nga twafa naye, era tulibeera balamu wamu naye. Bwe tugumiikiriza, era tulifugira wamu naye; bwe tumwegaana, era naye alitwegaana. Bwe tutabeera beesigwa, ye abeera mwesigwa, kubanga tayinza kwegaana kyali.” Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira. Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima. Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga, kubanga bireetera abantu kweyongera bweyongezi mu butatya Katonda. Ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo; ku abo ye Kumenayo ne Fireeto; kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe. Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti, “Mukama waffe amanyi ababe,” era nti, “Buli ayatula erinnya lya Mukama, yeewalenga obutali butuukirivu.” Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era mubaamu n'eby'emiti n'eby'ebbumba; n'ebirala eby'ekitiibwa, n'ebirala ebitali bya kitiibwa. Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga, ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi. Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga, naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe, awamu n'abo abasaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu. Naye empaka ez'obusirusiru era ez'obutayigirizibwa ozirekanga, ng'omanyi nga zizaala okulwana. Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza, abuulirira n'obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima, era balyoke badduke okuva mu mutego gwa Setaani, oyo eyabanyaga okukolanga by'ayagala. Naye tegeera kino nga mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiro eby'okulaba ennaku. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, si batuukirivu, abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, ab'enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda. Balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo, abantu bwe batyo obakubanga amabega. Kubanga mu abo mulimu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu, abayiga bulijjo, naye ne batayinza ennaku zonna okutuuka ku kutegeerera ddala amazima. Era nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa, ne bano bwe batyo baziyiza amazima; abayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kukkiriza. Naye tebalyeyongera wala nnyo, kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa ddala abantu bonna, era ng'obwa bali bwe bwategeerebwa. Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange, okuyigganyizibwa kwange, n'okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, ne mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali, era Mukama waffe yandokola mu byonna. Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez'okutya Katonda banaayigganyizibwanga. Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu kukola obubi, nga balimba era nga balimbibwa. Naye ggwe beeranga mu ebyo bye wayiga n'otegeerera ddala, ng'omanyi abakuyigiriza bwe bali; era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu kulokoka olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu. Ebyawandiikibwa byonna ebitukuvu birina okuluŋŋamya kwa Katonda era bigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe; buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n'eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza. Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli; baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo. Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'Enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo. Kubanga nze kaakano nsemberedde okufa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse. Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye. Kaakano ekisigaddeyo, engule enterekeddwa ey'obutuukirivu, Mukama waffe gy'alimpeera ku Lunaku luli, asala emisango egy'ensonga, so si nze nzekka, naye era ne bonna abaagala okulabika kwe. Fuba okujja gye ndi mangu, kubanga Dema yandekawo, ng'ayagala eby'ensi eno, n'agenda e Ssessaloniika; Kulesuke n'agenda e Ggalatiya, ne Tito n'agenda e Dalumatiya. Lukka ye ali awamu nange yekka. Laba Makko, mujje naye; kubanga angasa olw'okuweereza. Naye Tukiko nnamutuma mu Efeso. Ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo, bw'oliba ng'ojja, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, biri eby'amaliba. Alegezanda omuweesi w'ebikomo yankola obubi bungi, Mukama waffe alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byali. Oyo naawe omwekuumanga; kubanga yaziyiza nnyo ebigambo byaffe. Mu kuwoza kwange okw'olubereberye tewali yannyamba, naye bonna banjabulira, nsaba baleme okukibalirwa. Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n'ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire, bwentyo ne ndokoka mu kamwa k'empologoma. Mukama waffe anaamponyanga mu buli kikolwa ekibi, era anandokolanga olw'obwakabaka bwe obw'omu ggulu, aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe Amiina. Lamusa Pulisika ne Akula, n'ennyumba ya Onesifolo. Erasuto yasigala mu Kkolinso, naye Tulofiimo nnamuleka mu Mireeto ng'alwadde. Fuba okujja ebiro eby'obutiti nga tebinnatuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n'ab'oluganda bonna. Mukama waffe abeerenga n'omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe. Pawulo, omuddu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okukkiriza kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, ebyesigamye mu kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda ow'amazima bwe yasuubiza ng'ebiro eby'emirembe n'emirembe tebinnabaawo; naye mu ntuuko zaabyo yayolesa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri; eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli; ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli. Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga, nga nze bwe nnakulagira; omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu oba abajeemu. Kubanga omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, ng'omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, si wa busungu, si mutamiivu, si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa; naye ayaniriza abagenyi, ayagala obulungi, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeefuga; anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okunyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bwabo abagiwakanya. Kubanga eriyo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, era okusingira ddala abo ab'omu bakomole, basaanye okuziyizibwa, kubanga abo be bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde, olw'amagoba ag'obukuusa. Omu ku bo, era nnabbi waabwe bo, yagamba nti, “Abakuleete balimba ennaku zonna, zensolo embi, ba mululu era bagayaavu.” Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova oteekwa okubanenya n'amaanyi, balyoke babeere mu kukkiriza okutuufu, balekeraawo okuwuliriza enfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyama okuva ku mazima. Eri abalongoofu byonna birongoofu, naye eri abagwagwa n'abatakkiriza tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa. Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonna ekirungi. Naye ggwe yigirizanga ebisaanira okuyigiriza okw'obulamu. Kubirizanga abasajja abakulu babeerenga bateefu, baabuvunaanyizibwa, bategeevu, abalina okukkiriza, okwagala, era abanywevu. Abakazi abakulu nabo bakubirizenga babeerenga n'empisa ezisaanira mu bantu, nga tebawaayiriza, era nga si batamiivu, naye abayigiriza ebirungi; balyoke batendeke abakazi abato okwagalanga babbaabwe, n'abaana baabwe, era babeerenga bategeevu, nga si benzi, abakola emirimu mu maka gaabwe, ab'ekisa, era abagondera babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa. N'abasajja abavubuka baakubirizenga okubeera abasobola okwefuga mu byonna. Mu bigambo byonna ggwe beera ekyokulabirako ekirungi mu bikolwa, ne mu kuyigiriza kwo ng'olaganga obugolokofu, obumalirivu, nga buli ky'oyogera tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako. Kubirizanga abaddu okugonderanga bakama baabwe, nga basiimibwanga mu byonna; tebateekwa kuba bajeemu, nga tebabba, naye nga beesigwa ddala mu byonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waffe Katonda mu byonna. Kubanga ekisa kya Katonda kirabise, nga kireetera abantu bonna obulokozi, nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, tulyoke tubeerenga abateefu, abatuukirivu, era abatya Katonda mu nsi eno, nga tulindirira essuubi ery'omukisa n'okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery'envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi. Yogeranga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n'obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga. Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okubeera abeetegefu okukola omulimu omulungi, nga teboogera bubi ku muntu yenna, nga beewala okuyomba, abawombeefu, era nga bassaamu ekitiibwa abantu bonna. Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuli baddu ba buli kwegomba okubi, n'ebinyumu ebitali bimu, nga tuli ba ttima era ab'obuggya, nga tukyayibwa abantu era nga tukyawagana ffekka na ffekka. Naye obulungi n'okwagala okw'ekisa okwa Katonda Omulokozi waffe bwe byalabika, n'atulokola, si lwa bikolwa bye twakola mu butuukirivu, wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogwokubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu, gwe yatufukako mu bungi mu Yesu Kristo Omulokozi waffe; tulyoke tutukuzibwe olw'ekisa kye, era tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu: naye weewalenga empaka ez'obusirusiru, enkalala ez'endyo, ennyombo n'okuwakanira amateeka, kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu. Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogwolubereberye n'ogwokubiri, omwewalanga, ng'omanya ng'ali ng'oyo amaze okukyamizibwa era mwonoonyi; nga yeesalira yekka omusango. Bwe ntumanga Atema oba Tukiko gy'oli ofubanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby'obutiti. Fuba okwanguyaako Zeena munnamateeka ne Apolo, laba nga balina byonna bye beetaaga. Era fubisa abantu baffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, baleme okuba nga tebaabala bibala. Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow'oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe, ne Apofiya ow'oluganda ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yo. Ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe. Nneebaza Katonda wange bulijjo, bwe nkujjukira mu kusaba kwange, kubanga mpulira okwagala kwo n'okukkiriza kw'olina eri Mukama waffe Yesu n'eri abatukuvu bonna; era nsaba nti okutegeeza abalala okukkiriza kwo kuleetere okumanya ebirungi bye tulina mu Kristo. Kubanga nfunye essanyu lingi, n'okuwummuzibwa mu mutima, ebiva mu kwagala kwo, ow'oluganda, kubanga emyoyo gy'abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo. Kale, newakubadde nga nnina obuvumu bwonna mu Kristo okukulagira okukola ekyo ekisaana, naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, nze, Pawulo, omubaka era kaakano omusibe olwa Kristo Yesu; nkwegayirira olw'omwana wange, Onnessimo, gwe nfukidde kitaawe mu busibe bwange, ataakugasanga edda, naye kaakano atugasa ffembi, ggwe nange, gwe nkomyawo gy'oli, ye gwe mutima gwange gwe nkuweerezza. Nnandibadde musanyufu okumusigaza, alyoke ampeerezenga mu kifo kyo mu kiseera eky'okusibibwa kwange olw'Enjiri, naye ssaagadde kukikola nga tonzikirizza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala. Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe; nga takyali muddu buddu, naye ng'asingako awo, ng'afuuse ow'oluganda omwagalwa, na ddala gye ndi, naye era okusingira ddala eri ggwe mu mubiri ne mu Mukama waffe. Kale oba ng'ondowooza nze okubeera munno, musembeze nga bwe wandinsembezeza. Naye oba nga alina kye yakusobya, oba ng'omubanja ekintu kyonna, kibalire nze. Nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula, sijja kukugamba nti nkubanja, era naawe wekka. Kale, ow'oluganda, onsanyuse mu Mukama waffe, owummuze omwoyo gwange mu Kristo. Nkuwandiikidde nga nneesiga obuwulize bwo, nga mmanyi ng'ojja kukikola oba n'okusinga wo. Ate ekirala, ntegekera we ndisula, kubanga nsuubira olw'okusaba kwammwe muliweebwa okundaba. Epafula musibe munnange mu Kristo Yesu, akulamusizza; ne Makko, Alisutaluuko, Dema, Lukka, bakozi bannange. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe. Mu ngeri nnyingi ez'enjawulo edda, Katonda yayogereranga eri bajjajjaffe mu bannabbi, naye mu nnaku zino ez'oluvannyuma ayogedde naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era mu ye mwe yatondera ebintu byonna. Oyo alaga ekitiibwa kya Katonda era n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era abeezaawo buli kintu n'ekigambo eky'obuyinza bwe. Bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu; ng'asingira ddala obukulu bamalayika bwe yaweebwa erinnya erisingira ddala agaabwe. Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga mwana gye ndi?” Era nate bw'aleeta omubereberye mu nsi, ayogera nti, “Era bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.” Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be ennimi z'omuliro.” Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo, ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obutuukirivu, gwe muggo ogw'obwakabaka bwo. Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno.” Era ayongera n'agamba nti, “Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo; Ebyo biriggwaawo; naye ggwe oli wa lubeerera; N'ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa. Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma.” Ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo?” Bamalayika bonna si gy'emyoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi? Kyekivudde kitugwanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si ku lwa nga tuwaba ne tubivaako. Kuba oba ng'ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n'obutawulira byaweebwanga empeera ebisaanira, ffe tuliwona tutya bwe tulagajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira; era Katonda n'akakasiza ddala bye baayogeranga mu bubonero ne mu by'ekitalo ne mu by'amagero ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, bye yagaba nga bwe yayagala. Kubanga bamalayika si be bagenda okufuga ensi egenda okubaawo, gye twogerako. Waliwo ekifo mu byawandiikibwa omu we yategeereza, ng'ayogera nti, “Omuntu kye ki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ye ani ggwe okumujjira? Wamussa akaseera katono obuteenkana nga bamalayika; Wamussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, N'omufuza emirimu egy'emikono gyo: Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye.” Bwe yateeka ebintu byonna wansi we, tewali kintu kyonna kyatamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. Naye tulaba Yesu, eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw'ekisa kya Katonda yabonaabona n'afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n'alyoka atikirwa engule ey'ekitiibwa n'ettendo. N'olwekyo kyasaanira nti ye, ku bubwe era mu ye ebintu byonna mwe bibeererawo, olw'okuleeta abaana abangi mu kitiibwa, asooke okutuukiriza obulokozi bwabwe ng'ayita mu kubonaabona. Kubanga oyo atukuza era n'abo abaatukuzibwa bava mu omu bonna, kyava takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. ng'ayogera nti, “Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikutenderereza wakati mu kkuŋŋaaniro.” Era awalala agamba nti, “Nze nnaamwesiganga oyo.” Era ne yeyongera n'agamba nti, “Laba nze n'abaana Katonda be yampa.” Olw'okubanga abaana balina omubiri n'omusaayi, naye yalina omubiri n'omusaayi, nga ayita mu kufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani; era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa. Kubanga mazima bamalayika si b'ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu. Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda olw'okutangirira ebibi by'abantu. Kubanga ye yennyini yabonaabona ng'akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa. Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze ku Yesu, Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'okukkiriza kwaffe. eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda. Naye Yesu asaana ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'omuzimbi w'ennyumba bw'abeera n'ekitiibwa okusinga ennyumba. Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda. Ne Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda, ng'omuweereza, okutegeeza ebintu ebyali bigenda okwogerwa, naye Kristo yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda ng'omwana. naffe tuli nnyumba ye bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza. Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw'ayogera nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kiseera kye baajeemeramu, Nga ku lunaku lw'ebakemerwako mu ddungu, Bajjajjammwe kwe bankema, nga bangeza, Ne balaba ebikolwa byange emyaka ana (40). Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti, ‘Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe, tebaategeera makubo gange.’ Nga bwe nnalayira mu busungu bwange, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange. ’ ” Mwekuume, ab'oluganda, omutima omubi ogw'obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu. Naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, nga bwe mukyalina ekiseera ekiyitibwa, “leero,” waleme okubaawo omuntu yenna ku mmwe okukakanyazibwa obulimba bw'ekibi. Tunaaba tussa kimu mu Kristo, bwe tunanywereza ddala okusuubira kwaffe okutuusa ku nkomerero kwe twatandika nakwo, nga bwe kikyayogerwa nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kiseera kye bajeemeeramu.” Baani abo abaawulira, naye ne bajeema? Si beebo bonna abaava mu Misiri nga bakulemberwa Musa? Era baani be yanyiigira okumala emyaka ana (40)? Si beebo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu? Era baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si beebo abataagonda? Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw'obutakkiriza. N'olwekyo ng'ekisuubizo eky'okuyingira mu kiwummulo kye nga bwe kikyaliwo, twekuume, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. Kubanga naffe twabuulirwa Enjiri, era nga bo, naye ekigambo kye baabuulirwa tekyabagasa bo, kubanga bwe baakiwulira tebakikkiriza. Kubanga ffe abamaze okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti, “Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange,” newakubadde ng'emirimu gye gyaggwa okuva mu kutondebwa kw'ensi. Kubanga waliwo w'ayogerera ku lunaku olw'omusanvu bw'ati, nti, “Katonda n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna;” era nate ne mu kino nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.” Kale kubanga kisigaddeyo abalala okukiyingiramu, n'abo abaasooka okubuulirwa Enjiri tebaayingira olw'obujeemu. Kyeyava nate ateekaawo olunaku oluyitibwa,“ leero,” nga bwe yayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi, mu bigambo bye tumaze okwogera waggulu, “Leero, bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.” Kuba singa Yoswa yabawa ekiwummulo, Katonda teyandyogedde ate ku lunaku lulala. Kale wakyaliyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda. Kubanga buli ayingira mu kiwummulo kya Katonda, era aba awummula emirimu gye, nga Katonda bwe yawummula egigye. Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, waleme kubaawo omuntu yenna alemwa okuyingira olw'engeri ng'eyo ey'obujeemu. Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima. So tewali kitonde ekitalabika mu maaso ge, naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe. Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okukkiriza kwaffe. Kubanga tulina Kabona Asinga obukulu alumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, so nga ye talina kibi. Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa ekinatuyambanga mu kiseera nga twetaaga. Kubanga buli kabona asinga obukulu, alondebwa okuva mu bantu, ateekebwawo okuweereza ku lwa bantu eri Katonda, okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi byabwe. Ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu. Era olw'obunafu obwo kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw'abantu. Tewali muntu yenna ayinza okwetwalira ekitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni bwe yayitibwa. Ne Kristo bwatyo, teyeegulumiza yekka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula yalondebwa oyo eyamugamba nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe;” era nga bw'ayogera awalala nti, “Ggwe oli kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Merukizeddeeki.” Yesu mu kiseera kye yabeerera mu mubiri, yasaba ne yeegayiriranga ng'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka na maziga, oyo eyayinza okumulokola mu kufa, era yawulirwa olw'okutya kwe Katonda. Newakubadde nga yali Mwana wa Katonda, yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona; awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensibuko y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamugondera, era bwe yalondebwa Katonda okuba kabona asinga obukulu mu lubu lwa Merukizeddeeki. Waliwo bingi bye twandyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu. Newakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kikyetaagisa okuddamu okubayigiriza ebisookerwako eby'ekigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere nkalubo. Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu, aba akyali mwana muto. Naye emmere enkalubo ya bakulu, abamaze okwetendeka ne bayiga okwawula ekirungi ku kibi. N'olwekyo katuleke ebyo ebisookerwako okuyigiriza Kristo, tweyongere mu kukula mu kukkiriza, kuba twabatekerawo dda omusingi ogw'okwenenya ebikolwa ebifu n'okukkiriza Katonda. Twabayigiriza dda eby'okubatizibwa, eby'okussibwako emikono, eby'okuzuukira kw'abafu, n'eby'omusango ogutaggwaawo. Era tunaakola bwe tutyo Katonda nga bw'anayagala. Kubanga kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja, ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya. Kuba baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu. Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala ebibala ebibasaanira abo ababirima, efuna mukisa okuva eri Katonda, naye bw'ebala amaggwa n'amatovu, tesiimibwa era eba kumpi n'okukolimirwa, ku nkomerero ebimezeeko byokebwa. Naye, abaagalwa, newakubadde twogedde bwe tutyo, mmwe tetubabuusabuusa, tumanyi nga mulina ebintu ebirungi ebiraga nga muli mu bulokozi. Kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza. Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero; mulemenga okubeera abagayaavu, naye mube ng'abo abakkiriza era abagumikiriza ne bafuna ebyasuubizibwa. Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka ng'ayogera nti, “Mazima ndikuwa omukisa, nnaakwazanga.” Bw'atyo Ibulayimu bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa. Kubanga abantu balayira asinga obukulu, era mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro bwe bukakafu obusalawo. Ne Katonda bw'atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng'ayagala okukakasiza ddala abasika b'ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. Katonda yakikola bw'atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abaddukira gy'ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. Ebyo bye binyweza ddala emmeeme zaffe ng'essika ery'obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu, era eriyingira munda w'eggigi; Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli. Kubanga oyo Merukizeddeeki, kabaka w'e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, yasisinkana Ibulayimu bwe yali ng'akomawo ng'ava okutta bakabaka, n'amusabira omukisa, era Ibulayimu n'awa Merukizeddeeki ekitundu eky'ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya eryo litegeeza, kabaka ow'obutukirivu, era eky'okubiri, ye kabaka w'e Ssaalemi, ekitegeeza nti ye kabaka ow'emirembe; atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y'obulamu, naye eyafaananyizibwa Omwana wa Katonda, abeera kabona ow'olubeerera ennaku zonna. Kale mulowooze omuntu oyo bwe yali omukulu, Ibulayimu jjajja omukulu gwe yawa ekitundu eky'ekkumi ku munyago gwe yali afunye. N'abo ab'omu baana ba Leevi abaaweebwa obwakabona amateeka gabalagira okusoloozanga ebitundu eby'ekkumi mu bantu, be baganda baabwe, newakubaddenga bo n'abo baava mu Ibulayimu. Naye oyo, atali wa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky'ekkumi okuva ku Ibulayimu n'amusabira omukisa ogw'oyo eyalina ebyasuubizibwa. Naye, tekyegaanika n'akatono, omukulu yasabira omuto omukisa. Mu ngeri emu, abaweebwa ebitundu eby'ekkumi be bantu abafa, naye mu ngeri endala kiweebwa eri oyo ategeezebwa nga mulamu. Tuyinza era okugamba nti ne Leevi, aweebwa ekimu eky'ekkumi, yawaayo ekikye nga ayita mu Ibulayimu; kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana. Kale okutuukirira singa kwaliwo lwa bwakabona obw'Abaleevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka mu biro byabwo, kiki ekyetaaza nate kabona ow'okubiri okuyimuka mu ngeri ya Merukizeddeeki, n'atabalirwa mu ngeri ya Alooni? Kubanga obwakabona bwe bukyusibwa era n'amateeka tegalema kukyusibwa. Kubanga oyo eyayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutavanga muntu yenna eyali aweerezza ku kyoto. Kubanga kitegeerekese nga Mukama waffe yava mu Yuda; ekika Musa ky'atayogerako bigambo bya bakabona. Era kitegeerekeka nga wazeewo kabona omulala ali mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, afuuse kabona si mu mateeka nga bwe galagira abe nga ava mu lubu lwa buzaale, naye avudde mu maanyi ag'obulamu obutaggwaawo. Kubanga Kristo ayogerwako nti, “Oli kabona okutuusa emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.” Kubanga ekiragiro ekyasooka kijjulukuka olw'obunafu n'obutagasa bwakyo, kubanga amateeka tagaliiko kye gaatuukiriza, essuubi erisinga obulungi ne liyingizibwa, eritusembezesa eri Katonda. Era kino tekyakolebwa watali kulayira kirayiro. Kubanga abo baafuulibwanga bakabona awatali kirayiro; naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro ng'ayita mu oyo amwogerako nti, “Mukama yalayira, era talyejjusa, Oli kabona okutuusa emirembe gyonna.” Era ne Yesu bw'atyo bw'afuuka omuyima w'endagaano esinga obulungi. Bakabona baali bangi kubanga baafanga nga tebayinza kubeerawo bbanga lyonna. Naye kubanga ye Yesu abeerera emirembe gyonna, kyava alina obwakabona obutavaawo. Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga. N'olwekyo kabona asinga obukulu afaanana bw'atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu; atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. Kubanga amateeka gaalondanga abantu okuba bakabona abasinga obukulu, n'obunafu bwabwe, naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna. Kale mu bigambo byetwogera kino kye kinyusi: tulina kabona asinga obukulu, afaanana bw'atyo, eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu ggulu, omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, etaazimbibwa bantu, wabula Mukama. Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka, kye kiva kimugwanira ne kabona ono okubaako n'ekintu ky'awaayo. Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, nga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng'amateeka bwe gali; baweerereza mu kifaananyi na kisiikirize ky'ebyo eby'omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng'agenda okukola eweema: kubanga Katonda yamugamba nti, “Laba ng'okola byonna nga bwe byakulagiddwa ku lusozi.” Naye kaakano bwe kiri, Yesu yaweebwa okuweereza okusinga obukulu, era n'endagaano gyalimu ng'omutabaganya y'esinga obulungi, kubanga era n'ebisuubizo byayo bye bisinga obulungi. Kuba endagaano eri eyolubereberye singa teyaliiko kya kunenyezebwa, tewandibaddewo nsonga eyagaza ya kubiri. Kubanga bw'abanenya ayogera nti, “Laba, ennaku zijja,” bw'ayogera Mukama, “Bwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri era n'ennyumba ya Yuda. Si ng'endagaano gye nnalagaana ne bajjajjaabwe Ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'Emisiri; Kubanga abo tebaanywerera mu ndagaano yange, Nange ne ssibassaako mwoyo, bw'ayogera Mukama. Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ezo. bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, Era ndigawandiika ku mutima gwabwe, Nange nnaabeeranga Katonda waabwe, Nabo banaabeeranga bantu bange. Era tewaliba muntu aliyigiriza munne, oba muganda we, ng'agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, Okuva ku muto okutuuka ku asinga obukulu. Kubanga ndibasaasira mu butali butuukirivu bwabwe, N'ebibi byabwe siribijjukira nate.” Bw'ayogera ku ndagaano empya, kiba kitegeeza nti eyolubereberye aba agiddibizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiba kiri kumpi okuggwaawo. Era n'endagaano eyolubereberye yalina empisa ezaalagirwa ez'okusinzanga Katonda, n'ekifo ekitukuvu, eky'omu nsi. Weema yakolebwa nga erimu ebitundu bibiri, ekitundu ekimu nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky'ettaala, n'emmeeza n'emigaati egy'okulaga. Kino nga kiyitibwa Awatukuvu. Era waliwo olutimbe olwokubiri ng'emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w'Awatukuvu. Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ekya zaabu, n'essanduuko ey'endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emmaanu, n'omuggo gwa Alooni ogwaloka, n'ebipande eby'endagaano; ne kungulu ku yo bakerubi ab'ekitiibwa nga basiikiriza entebe ey'okusaasira; bye tutayinza kwogerako kaakano kinnakimu. Naye ebyo bwe byakolebwa bwe bityo, bakabona bayingiranga buli lunaku mu kitundu kya weema ekisooka okutuukirizanga emirimu egy'okuweereza; naye mu kiri eky'okubiri, kabona asinga obukulu yekka, yayingirangamu omulundi gumu buli mwaka, era yagendangayo n'omusaayi gwe yawangayo ku lulwe n'olw'ebibi by'abantu bye baakolanga mu butamanya. Omwoyo Omutukuvu atutegeeza nti, ng'ekkubo erituuka mu kifo ekitukuvu lyali terinnalabisibwa, ng'eweema eyolubereberye ekyayimiriddewo; amakulu g'ebyo mu kiseera kino ge gano nti, ebirabo era ne ssaddaaka ebyaweebwangayo nga tebiyinza kutukuza mutima gw'oyo asinza. Ebyo byakomanga ku ngulu, nga bifa ku kulya na kunywa na bulombolombo obw'okunaaba, okutuusa ku biro eby'okudda obuggya. Naye Kristo bwe yajja kabona asinga obukulu ow'ebigambo ebirungi ebigenda okujja, n'ayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa na mikono, amakulu, etali ya mu nsi muno, so si lwa musaayi gwa mbuzi n'ennyana, naye lwa musaayi gwe ye, n'ayingirira ddala omulundi gumu mu watukuvu, bwe yamala okufuna okununula okutaggwaawo. Kuba oba ng'omusaayi gw'embuzi n'ente ennume n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina ebibi, bitukuza okunaaza omubiri; omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw'Omwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe okuva mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu? N'olwekyo Kristo ye kyava abeera omubaka w'endagaano empya, okufa bwe kwabeerawo olw'okununula mu byonoono eby'omu ndagaano eyolubereberye, abaayitibwa balyoke baweebwe okusuubiza kw'obusika obutaggwaawo. Kubanga awaba endagaano ey'obusika, kigwana okubaawo okufa kw'oyo eyagikola. Kubanga endagaano ey'obusika ekola nga eyagikola amaze okufa, kubanga teba na makulu nga eyagikola akyali mulamu. Era n'endagaano eyolubereberye teyakakasibwa awatali musaayi. Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okwogerwa Musa eri abantu bonna ng'amateeka bwe gali, n'atwalanga omusaayi gw'ennyana n'embuzi, wamu n'amazzi n'ebyoya by'endiga ebimyufu n'ezobu, n'amansiranga ku kitabo kyennyini, era ne ku bantu bonna, ng'ayogera nti,“ Guno gwe musaayi gw'endagaano Katonda gye yabalagira.” Era nate eweema n'ebintu byonna eby'okuweereza n'abimansirangako omusaayi bw'atyo. Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa. Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu kye biva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby'omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo. Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n'emikono, ekyafaanana ng'ekyo eky'amazima; naye yayingira mu ggulu mwennyini, gy'ali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe. So si kwewangayo mirundi mingi; nga kabona asinga obukulu bw'ayingira mu kifo ekitukuvu buli mwaka n'omusaayi ogutali gugwe; kubanga kyandimugwanidde okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw'ensi, naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y'emirembe alyoke aggyewo ekibi olw'okwewaayo ye yennyini. Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo musango; era ne Kristo bw'atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi, alirabika omulundi ogwokubiri awatali kibi eri abo abamulindirira olw'obulokozi. Kubanga amateeka bwe gali ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka, nga teziyinza kutukuza abo abazisemberera. Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo? Kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu, tebandibadde na kwetegeerako bibi nate. Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka. Kubanga tekiyinzika omusaayi gw'ente ennume n'embuzi okuggyawo ebibi. Kristo ng'ajja mu nsi, kye yava ayogera nti, “Ssaddaaka n'ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omubiri; Tewasiima ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi; Ne ndyoka njogera nti,‘ Laba, nzize okukola by'oyagala, ayi Katonda,’ Nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw'ekitabo.” Bw'ayogera waggulu nti, “Ssaddaaka n'ebiweebwayo n'ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng'amateeka bwe gali,” n'alyoka ayogera nti, “Laba, nzize okukola by'oyagala.” Aggyawo eky'olubereberye, alyoke anyweze eky'okubiri. Mu ebyo by'ayagala twatukuzibwa olw'okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu. Na buli kabona ayimirira buli lunaku ng'aweereza ng'awaayo emirundi emingi ssaddaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kuggyako bibi emirembe gyonna, naye oyo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka emu olw'ebibi okutuusa emirembe gyonna, n'alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; ng'alindirira oluvannyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey'ebigere bye. Kubanga olw'okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza okutuusa emirembe gyonna abo abaatukuzibwa. Era n'Omwoyo Omutukuvu ye mujulirwa gyetuli: kubanga bw'amala okwogera nti, “Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika;” n'alyoka ayogera nti, “N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate.” Naye awali okuggyibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw'ekibi. Kale ab'oluganda, nga bwe tulina obugumu okuyingira mu kifo ekitukuvu olw'omusaayi gwa Yesu, mu kkubo lye yatukubira, eriggya eddamu, eriyita mu ggigi, gwe mubiri gwe; era nga bwe tulina kabona omunene afuga ennyumba ya Katonda; tusemberenga n'omwoyo ogw'amazima olw'okukkiriza okutuukiridde, emitima gyaffe nga gimansirwako okuggyamu omwoyo omubi, n'emibiri gyaffe nga ginaazibwa n'amazzi amalungi. Tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe obutasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa, era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n'ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira, era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba Olunaku luli nga lunaatera okutuuka. Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw'ebibi, wabula okulindirira n'okutya okusalirwa omusango, n'omuliro ogw'amaanyi ogugenda okwokya abalabe. Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu, mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyenkana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaano ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa? Kubanga tumumanyi oyo eyayogera nti, “Nze ndiwoolera eggwanga, Nze ndisasula.” Era nate nti, “Mukama yalisalira omusango abantu be.” Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu. Naye mujjukire ennaku ez'edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okubonyaabonyezebwa okw'amaanyi. Oluusi mwafuuka ekyerolerwa n'emuvumibwa, n'emuyigganyizibwa, olulala ne mussa kimu n'abo abaabonaabona nga mmwe. Kubanga mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby'olubeerera. Kale temusuulanga bugumu bwammwe, obuliko empeera ennene. Kubanga mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by'ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa. “Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, Ajja alituuka, so talirwa. Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza, Era bw'addayo emabega, emmeeme yange temusanyukira.” Naye ffe tetuli mu abo abadda emabega mu kuzikirira, naye tuli mu abo abakkiriza okulokola obulamu bwabwe. Okukkiriza kwe kukakasa nti ebisuubirwa birituukirira, era n'obutabuusabuusa newakubadde nga tebinalabika. Kubanga okukkiriza okwo kwavirako abantu ab'edda okusiimibwa Katonda. Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ebirabika kye byava bikolebwa nga biggyibwa mu bitalabika. Olw'okukkiriza Abiri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, n'ekimuweesa obutuukirivu, Katonda bwe yakkiriza ebirabo bye, era olw'ekyo newakubadde nga Abiri yafa, naye akyayogera. Olw'okukkiriza, Enoka yatwalibwa nga tayise mu kufa n'atalabika kubanga Katonda yamutwala, kubanga bwe yali nga tannamutwala, Katonda yategeeza nga bwe yamusiima. Era awatali kukkiriza tekiyinzika kusanyusa Katonda, kubanga buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya. Olw'okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n'atya era mu kukkiriza n'azimba eryato olw'okulokola ennyumba ye, kye yava asalira ensi omusango, n'afuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kukkiriza. Olw'okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; bw'atyo n'agenda nga tamanyi gy'agenda. Olw'okukkiriza n'abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng'etali yiye, ng'asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab'okusuubizibwa okwo, kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba era kye yazimba. Olw'okukkiriza era ne Saala yennyini n'aweebwa amaanyi okuba olubuto newakubadde nga yali ayitiridde mu myaka, kubanga oyo eyamusuubiza yamulowooza nga mwesigwa: n'olwekyo okuva mu muntu omu eyali Afaanana ng'afudde, mwe mwava abantu abangi ng'emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja ogutabalika. Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa byabasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi. Kubanga aboogera bwe batyo boolesa nga banoonya ensi ey'obutaka. Era singa bajjukira ensi eri gye baavaamu, bandibadde n'ebbanga okuddayo. Naye kaakano beegomba ensi esinga obulungi, ye y'omu ggulu, Katonda kyava alema okukwatibwa ensonyi ku lw'abo, okuyitibwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekerateekera ekibuga. Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yagezesebwa, yawaayo Isaaka omwana we eyazaalibwa omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa, eyagambibwa nti,“ Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.” Yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n'ayaniriza Isaaka ng'alinga azuukidde mu bafu. Olw'okukkiriza Isaaka yasabira omukisa Yakobo ne Esawu, mu bigambo ebyali bigenda okujja. Olw'okukkiriza Yakobo, bwe yali agenda okufa, yasabira omukisa abaana ba Yusufu bombiriri; n'asinza ng'akutamye ku musa gw'omuggo gwe. Olw'okukkiriza Yusufu, bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayogera ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira ku by'amagumba ge. Olw'okukkiriza Musa, bwe yazaalibwa, abazadde be ne bamukwekera emyezi esatu, kubanga baamulaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya kabaka. Olw'okukkiriza Musa, bwe yakula, n'agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo; ng'asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n'abantu ba Katonda okusinga okubanga mu kwesiima okw'ekibi okuggwaawo amangu; ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yali asuubira empeera eyo. Olw'okukkiriza n'aleka Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yagumiikiriza ng'alaba oyo atalabika. Olw'okukkiriza yakola Okuyitako n'okumansira omusaayi, eyazikiriza ababereberye be Misiri aleme nabo okubatwaliramu. Olw'okukkiriza ne bayita mu Nnyanja Emmyufu nga ng'abayita ku lukalu. Abamisiri bwe baagezaako okukola bwe batyo ne basaanyizibwawo. Olw'okukkiriza bbugwe wa Yeriko n'agwa, nga kimaze okwebungululwa okumala ennaku musanvu. Olw'okukkiriza Lakabu omwenzi oyo teyazikiririra wamu n'abo abataagonda, bwe yasembeza abakessi emirembe. Njogere ki nate? Kubanga ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa ne ku Dawudi, Samwiri ne bannabbi abalala. Olw'okukkiriza abo be baawangula obwakabaka, be baakola eby'obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, be baabuniza obumwa bw'empologoma, be baazikiza amaanyi g'omuliro, be badduka obwogi bw'ekitala, be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, be baafuuka abazira mu ntalo, be baagoba eggye ly'ab'amawanga. Abakazi ne baweebwa abafu baabwe nga bazuukidde, n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebaganya kununulibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi, n'abalala ne baduulirwa ne bakubibwa, ne basibibwa ne bateekebwa mu kkomera. Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala, baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi; nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubi n'ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi, nga beekweka mu mpuku ne mu bunnya obw'ensi. Naye abantu abo bonna newakubadde bakakasibwa olw'okukkiriza kwabwe, tabafuna ekyasuubizibwa, Kubanga Katonda yatulabira dda ffe ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo. Kale naffe, bwe tulina ekibiina eky'abajulirwa eky'enkana awo, twambulenga buli ekizitowa n'ekibi ekyegatta naffe, tuddukenga n'okugumiikiriza embiro eziteekeddwa mu maaso gaffe, nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda. Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez'abakola ebibi, mulemenga okukoowa, oba okuddirira mu mmeeme zammwe. Temunnawakana okutuuka ku kuyiwa omusaayi gwammwe nga mulwana ne kibi. Mwerabidde ebigambo ebibabuulirirwa ng'abaana, “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga; Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw'akkiriza.” Olw'okukangavvulwa kyemunaavanga mugumiikiriza. Katonda abakola ng'abaana; kuba mwana ki kitaawe gw'atakangavvula? Naye bwe mutakangavvulwa nga n'abalala bwe bakangavvulwa, munaaba beebolereze, so si baana. Twalina bakitaffe ab'omubiri abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa, tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w'emyoyo, ne tuba abalamu? Kubanga bo baatukangavvuliranga ennaku si nnyingi olw'okwegasa bo; naye oyo atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe. Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku, naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye bibala eby'obutuukirivu. Kale mugolole emikono gyammwe egikooye, n'amaviivi gammwe agakozimba; era mukubirenga ebigere byammwe amakubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi. Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n'obutukuvu, awatali obwo tewali aliraba Mukama: mulabe waleme kubaawo omuntu yenna asubwa ekisa kya Katonda, era mwekuume “ekikolo kyonna eky'okukaawa” kiremenga okuloka mu mmwe, okugwagwawaza abangi; era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi, oba atatya Katonda, nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'akawumbo k'emmere akamu. Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, tekyasoboka kubanga teyafuna bbanga lya kwenenyezaamu, newakubadde nga yagunoonya n'amaziga mangi. Kubanga temuzze ku lusozi olukwatibwako era olwaka n'omuliro, n'eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga, n'okuvuga kw'ekkondeere, n'eddoboozi ly'ebigambo; abaaliwulira ne beegayirira obutayongerwako kigambo lwa kubiri; kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti, “Newakubadde n'ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja,” n'ebyalabika byali byantiisa bwe biti Musa n'okugamba n'agamba nti, “Ntidde nnyo era nkankanye.” Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne ku kibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky'omu ggulu, n'eri obukumi bwa bamalayika, eri ekkuŋŋaaniro eddene era ekkanisa ey'ababereberye abaawandiikibwa mu ggulu, n'eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatuukirivu abaatuukirizibwa, n'eri Yesu omubaka w'endagaano empya, n'eri omusaayi ogw'okumansira ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abbeeri. Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng'ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng'ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka: eyakankanya ensi n'eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng'ayogera nti, “Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n'eggulu.” N'ekyo, nti, “Ekyasigadde omulundi gumu,” kitegeeza okuggibwawo kw'ebyo ebikankanyizibwa, ng'ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n'ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n'okwegendereza n'okutya, Katonda waffe gwe muliro ogwokya. Okwagalana ng'ab'oluganda kweyongere. Temwerabiranga kusembeza bagenyi: kubanga olw'okwo waaliwo abaasembeza bamalayika nga tebamanyi. Mujjukirenga abasibe, ng'abasibirwa awamu nabo; era n'abalaba ennaku, kubanga nammwe muli mu mubiri. Obufumbo bussibwemu ekitiibwa abantu bonna, n'ekitanda kibeere kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango. Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono. Kye tuva twaŋŋanga okwogera n'obuvumu nti, “Mukama ye mubeezi wange, ssiityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?” Mujjukirenga abakulembeze bammwe, abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe era mugobererenga okukkiriza kwabwe. Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu okutuusa emirembe n'emirembe. Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw'engeri ennyingi okuggya, kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si kunywezebwa na mpisa ez'okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu. Tulina ekyoto abaweereza eby'omu weema kye batalagirwa kuliirangako. Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira. Era ne Yesu kyeyava abonaabonera ebweru wa wankaaki, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe ye. Kale tufulume okugenda gy'ali ebweru w'olusiisira nga twetisse ekivume kye. Kubanga wano tetulina kibuga ekibeerera, naye tunoonya ekigenda okujja. Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye. Naye okukola obulungi n'okukkaanya temwerabiranga: kubanga ssaddaaka eziri ng'ezo zimusanyusa nnyo Katonda. Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw'obulamu bwammwe, nga baliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n'essanyu nga tebeemulugunya, kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe. Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo omulungi, nga twagala okubanga n'empisa ennungi mu byonna. Era okusinga ennyo mbeegayirira okukolanga bwe mutyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli. Naye Katonda ow'emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w'endiga omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, ye Mukama waffe Yesu, abatuukirize mu buli kigambo ekirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. Naye mbabuulirira, ab'oluganda, mugumiikirizenga ekigambo eky'okubuulirirwa, kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono. Mumanye nga ow'oluganda Timoseewo yateebwa; bw'alijja amangu, ndibalabira wamu naye. Mulamuse abakulembeze bammwe bonna, n'abatukuvu bonna. Ab'omu Italiya babalamusizza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. Amiina. Yakobo, omuddu wa Katonda era owa Mukama waffe Yesu Kristo, eri ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebyasaasaana, mbalamusizza. Mulowoozenga byonna okuba essanyu, ab'oluganda, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu; nga mutegeera ng'okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. Era omulimu gw'okugumiikiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna. Naye oba ng'omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa. Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky'abuusabuusa, kubanga abuusabuusa afaanana ng'ejjengo ery'ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng'aliweebwa ekintu kyonna okuva eri Mukama waffe; omuntu ow'emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna. Naye ow'oluganda omwavu yeenyumirizenga olw'obukulu bwe; era n'omugagga yeenyumirizenga olw'okutoowazibwa kwe, kubanga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo. Kubanga enjuba evaayo n'omusana omungi n'ewotosa omuddo; n'ekimuli kyagwo ne kigwa n'obulungi bw'ekifaananyi kyagwo ne bubula, era n'omugagga bw'atyo bw'aliwotoka mu kutambula kwe. Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa, kubanga bw'alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey'obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala. Omuntu yenna bw'akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema, kubanga Katonda takemebwa na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna. Naye buli muntu akemebwa, ng'awalulwa okwegomba kwe ye n'asendebwasendebwa. Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona, n'okwonoona okwo, bwe kumala okukula, ne kuzaala okufa. Temwerimbalimbanga, baganda bange abaagalwa. Buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow'ebyaka, atayinza kuba na kufuukafuuka newakubadde ekisiikirize eky'okukyuka. Olw'okuteesa kwe yatuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere ng'omwaka omubereberye ogw'ebitonde bye. Mumanye kino, ab'oluganda abaagalwa, buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala. Kubanga obusungu bw'omuntu tebukola butuukirivu bwa Katonda. Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n'obubi obusukkiridde, mutoolenga n'obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe. Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba. Kubanga omuntu yenna bw'aba omuwulizi w'ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng'omuntu eyeeraba amaaso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu; kubanga yeeraba n'agenda, amangu ago ne yeerabira bw'afaananye. Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'aganyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe. Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bw'ataziyiza lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe, eddiini y'oyo teriiko kyegasa. Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutaba na mabala ag'omu nsi. Ab'oluganda, temubanga na kukkiriza kwa Mukama waffe Yesu Kristo ow'ekitiibwa, ate ne muba n'okusosolanga mu bantu. Kubanga bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe omuntu alina empeta eya zaabu ayambadde eby'obuyonjo, era n'omwavu ayambadde enziina n'ayingira, nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby'obuyonjo, ne mwogera nti, “Ggwe tuula wano awalungi,” era ne mugamba omwavu nti, “Ggwe yimirira eri,” oba “Tuula wansi awali ebigere byange;” nga temwawukanye mu mmwe mwekka, ne mufuuka abalamuzi ab'ebirowoozo ebibi? Muwulire, baganda bange abaagalwa; Katonda teyalonda abalina obwavu bw'omu nsi okubeeranga n'obugagga obw'okukkiriza, n'okusikira obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala? Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini ne babatwala awasalirwa emisango? Si beebo abavuma erinnya eddungi lye muyitibwa? Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka,” mukola bulungi. Naye bwe munaasosolanga mu bantu, nga mukoze kibi, ne musingibwa amateeka ng'aboonoonyi. Kubanga omuntu yenna bw'aba akwata amateeka gonna, naye n'asobya mu limu, ng'azzizza omusango gwa gonna. Kubanga oyo eyayogera nti, “Toyendanga,” ate yayogera nti, “Tottanga.” Kale bw'otoyenda naye n'otta, ng'ofuuse mwonoonyi w'amateeka. Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng'abagenda okusalirwa omusango n'amateeka ag'eddembe. Kubanga omusango tegubaako kusaasirwa eri atasaasira, naye okusaasira kuwangula omusango. Kigasa kitya, ab'oluganda, omuntu bw'ayogera ng'alina okukkiriza, naye n'ataba na bikolwa? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola? Bwe wabaawo ow'oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng'emmere eya buli lunaku tebamala, era omu ku mmwe bw'abagamba nti, “Mugende n'emirembe mubugume, mukkute,” naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya? Era n'okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, kwokka nga kufudde. Naye omuntu alyogera nti, “Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa.” Ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olw'ebikolwa byange nnaakulaga okukkiriza kwange. Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi, era ne badayimooni bakkiriza, ne bakankana. Naye oyagala okutegeera, ggwe omuntu ataliimu, ng'okukkiriza awatali bikolwa tekuliiko kye kugasa? Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, bwe yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto? Olaba ng'okukkiriza kwakolera wamu n'ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw'ebikolwa bye. Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti, “Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu;” n'ayitibwa mukwano gwa Katonda. Mulaba ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka. Era ne Lakabu omwenzi bw'atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n'abayisa mu kkubo eddala? Kuba ng'omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufudde, era n'okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde. Temubeeranga bayigiriza bangi, baganda bange, nga mumanyi nga ffe abayigiriza tulisalirwa omusango ogusinga obunene. Kubanga ffenna tusobya mu bingi. Omuntu yenna bw'atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n'omubiri gwe gwonna. Naye bwe tuteeka ebyuma eby'embalaasi mu mimwa gyazo ziryoke zitugonderenga, tuyinza okufuga emibiri gyazo gyonna. Laba, era n'emeeri, newakubadde nga nnene bwe zityo, era nga zitwalibwa empewo ez'amaanyi, enkasi entono ennyo ye zigoba yonna yonna omugoba gy'asiima mu kwagala kwe. Era n'olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, era lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo. N'olulimi muliro, ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena. Kubanga buli ngeri ey'ensolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja bifugika era byafugibwa dda abantu. Naye olulimi tewali muntu ayinza kulufuga; bubi obutaziyizika, lujjudde obusagwa obutta. Olwo lwe tutenderezesa Mukama waffe ye Kitaffe; era olwo lwe tukolimiza abantu abaakolerwa mu kifaananyi kya Katonda. Mu kamwa ke kamu mwe muva okutendereza n'okukolima. Ab'oluganda, ebyo tekibigwanira kubeera bwe bityo. Ensulo ekulukuta amazzi amalungi n'agakaawa mu liiso erimu? Omutiini guyinza, ab'oluganda, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi. Ani alina amagezi n'okutegeera mu mmwe? Mu mpisa ennungi alagenga ebikolwa bye mu buwombeefu n'amagezi. Naye bwe muba n'obuggya obukambwe, n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima. Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani. Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi. Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi. Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe. Entalo ziva wa n'okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe? Mwegomba so temulina, mutta, era mwegomba, so temuyinza kufuna, mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba. Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi, mulyoke mubikozese okwegomba kwammwe. Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng'omukwano gw'ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw'ayagala okubeera mukwano gw'ensi yeefuula mulabe wa Katonda. Oba mulowooza ng'ekyawandiikibwa kyogerera bwereere nti, “Alina obuggya olw'Omwoyo gwe yatuuza mu ffe?” Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti, “Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.” Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga. Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri. Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe, okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essanyu lifuuke okunakuwala. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama, naye alibagulumiza. Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango amateeka, naye bw'osalira omusango amateeka, nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango. Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n'okuzikiriza. Naye ggwe ani asalira munno omusango? Kale nno mmwe aboogera nti, “Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tulimalayo omwaka gumu, tulitunda, tulifuna amagoba;” naye nga temutegeera bya nkya. Obulamu bwammwe buli nga ki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo. Mwandyogedde nti, “Mukama waffe bw'alyagala, tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.” Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe, okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi. Kale amanya ekirungi eky'okukola n'atakikola, eri oyo kiba kibi. Kale nno mwe abagagga, mukaabe mulire olw'ennaku ezijja ku mmwe. Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n'obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng'omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez'enkomerero. Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba, n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow'eggye. Mwesanyusa ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu; mugezzezza emitima gyammwe ku lunaku olw'okuttibwa. Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye n'atabawakanya. Kale, ab'oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo. Era nammwe mugumiikirizenga; munywezenga emitima gyammwe, kubanga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi. Temwemulugunyanga, ab'oluganda, mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, laba, omusazi w'emisango ayimiridde ku luggi. Mutwale ekyokulabirako, ab'oluganda, eky'okubonyaabonyezebwa n'okugumiikiriza, okwa bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga, mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw'akola, nga Mukama wa kisa kingi n'okusaasira. Naye okusinga byonna, ab'oluganda, temulayiranga newakubadde eggulu, newakubadde ensi, newakubadde ekirayiro ekirala kyonna, naye ekigambo kyammwe weewaawo kibeerenga weewaawo, n'ekigambo kyammwe si weewaawo kibeerenga si weewaawo; muleme okugwa mu musango. Waliwo mu mmwe omuntu ali obubi? Asabenga. Waliwo asanyuka? Ayimbenga eby'okutendereza Katonda. Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? Ayitenga abakadde b'ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe, n'okusaba kw'okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa; era oba nga yakola ebibi birimuggibwako. Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo. Eriya yali muntu eyakwatibwa byonna nga ffe, n'asaba nnyo enkuba ereme okutonnya; enkuba n'etatonnya ku nsi emyaka esatu n'emyezi mukaaga. N'asaba nate; eggulu ne litonnyesa enkuba, ensi n'emeza ebibala byayo. Ab'oluganda, omuntu yenna mu mmwe bw'akyamanga okuva mu mazima, omuntu n'amala amukyusa, ategeerenga ng'akyusa omwonoonyi okuva mu kkubo ekyamu, alirokola obulamu bwe mu kufa, era alibikka ku bibi bingi. Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya, abaalondebwa okusinziira ku kutegeerwa Katonda Kitaffe, n'okutukuzibwa kw'Omwoyo, olw'okugondera Yesu Kristo n'okumansirwako omusaayi gwe, ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli. Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogwokubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. Tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu, amaanyi ga Katonda be gakuuma olw'okukkiriza okufuna obulokozi obweteeseteese okubikkulibwa mu biro eby'enkomerero. Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira, okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa. Newakubadde temumulabangako naye mu mwagala; gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa. Bwe mutyo ne muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu bwammwe. Bannabbi abaategeezanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli, baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga eby'obulokozi buno. Banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera. Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza. Kale musibenga ebimyu by'amagezi gammwe, mutamiirukukenga, musuubirirenga ddala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa; ng'abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw'edda okw'omu butamanya bwammwe. Naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.” Era bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisa mu biro byammwe eby'okuba abayise. Mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe; wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi ogwa Kristo, ogulinga ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala. Oyo eyategeerebwa edda ensi nga tezinnatondebwa, naye n'alabisibwa ku nkomerero y'ebiro ku lwammwe. Okuyita mu ye, mulina obuvumu mu Katonda, eyamuzuukiza mu bafu n'amuwa ekitiibwa; okukkiriza kwammwe n'okusuubira biryoke bibeerenga mu Katonda. Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw'okwagalanga ab'oluganda okutaliimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima ogutuukiridde. Mwazaalibwa omulundi ogwokubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera. Kubanga “Abantu bonna bali ng'omuddo, N'ekitiibwa kyabwe kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo guwotoka ekimuli ne kigwa, naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe n'emirembe.” Era ekyo kye kigambo eky'Enjiri eky'ababulirwa. Kale muteekenga wala obubi bwonna n'obukuusa bwonna n'obunnanfuusi n'obuggya n'okwogera obubi kwonna. Ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku kulokoka. Kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama waffe. Mujje eri oyo ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi, era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwamu ennyumba ey'Omwoyo mubeerenga bakabona abatukuvu, okuwangayo ssaddaaka ez'Omwoyo, ezisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo. Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi; Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.” Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi, naye eri abatakkiriza, “Ejjinja abazimbi lye baagaana, eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda;” era “Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula.” Beesittala kubanga tebaagondera kigambo, nga bwe baali baateekeddwa okukola. Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky'ekitalo. Edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda; abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa. Abaagalwa, mbeegayirira ng'abayise n'abatambuze, okwewalanga okwegomba kw'omubiri okulwana n'obulamu. Munywezenga empisa zammwe ennungi mu b'amawanga, nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lwalirabikirako. Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe, oba kabaka nga ye asinga bonna; oba abaamasaza, kubanga ye b'atuma olw'okukangavvulanga abakola obubi, n'olw'okusiimanga abakola obulungi. Kubanga Katonda bw'ayagala bw'atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw'abantu abasirusiru nga mukola obulungi. Mubeere ba ddembe, so si ng'abalina eddembe lyammwe olw'okukisa obubi, naye ng'abaddu ba Katonda. Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab'oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka. Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe mu kutya kwonna, si balungi bokka n'abawombeefu, naye era n'abakambwe. Kubanga kino kye kisiimibwa, omuntu bw'agumiikiriza okulumwa olw'okujjukira Katonda, ng'abonyaabonyezebwa awatali nsonga. Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? Naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda. Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye. Ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke. Bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw'ensonga. Ye yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya. Kubanga mwali mukyama ng'endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe. Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bawaangulwenga si lwa bigambo naye olw'empisa z'abakazi baabwe; kubanga bannalabanga empisa zammwe ennongoofu ez'okutya. Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye; naye omuntu ow'Omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini; nga Saala bwe yagondera Ibulayimu, ng'amuyita omwami. Kale nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna. Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa. Eky'enkomerero, mwenna mubeerenga n'emmeeme emu, abasaasiragana, abaagala ab'oluganda, ab'ekisa, era abawombeefu. Temuwalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, mubeere abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa. Kubanga, “Ayagala obulamu, N'okulaba ennaku ennungi, Aziyizenga olulimi lwe mu bubi, N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa. Era yeewalenga obubi, akolenga obulungi; Anoonyenga emirembe, agigobererenga. Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe. Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.” Era ani anaabakolanga obubi, bwe munaanyiikiranga obulungi? Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa. Temutyanga kutiisa kwabwe, era temweraliikiriranga; naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe, nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya. Mubeerenga n'omwoyo omulungi; bwe banabavumanga, abo ababoogerako obubi, olw'empisa zammwe ennungi mu Kristo balyoke bakwatibwenga ensonyi. Kubanga kye kisinga obulungi, okubonyaabonyezebwa olw'okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kwagala kwa Katonda, okusinga okubonyaabonyezebwa olw'okukola obubi. Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo; era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera. Edda abataagonda, Katonda bwe yabagumiikiriza, mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyazimbibwa, amazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana. Okubatiza okugerageranyizibwa n'amazzi gano kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'Omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we. Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mubiri, nammwe mubeerengamu endowooza eyo; kubanga oyo yenna abonyaabonyezebwa omubiri ng'amaze okuleka ebibi; mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si lwa kwegomba kw'abantu, naye olw'ebyo Katonda by'ayagala. Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo. Kaakano beewuunya kubanga temukyabeegattako mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, era babavuma. Baliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu. Eno ye nsonga Enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo. Naye enkomerero ya byonna eri kumpi; kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba. Okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi. Musembezeganyenga mwekka na mwekka awatali kwemulugunya. Buli muntu nga bwe yaweebwa ekirabo, mukikozesenga mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu. Omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali, mu byonna Katonda agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina. Abaagalwa, temwewuunyanga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo. Naye musanyukenga, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, era nate mulyoke musanyukenga n'okujaguza ekitiibwa kye bwe kiribikkulibwa. Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe. Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne; naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo. Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda; kale, oba nga gusoose gyetuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda? Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonoonyi alirabikira wa? Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obulungi. Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa. Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala; so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo ogwewaayo. Temwefuulanga bafuzi b'abo be mwateresebwa, naye mubeeranga byakulabirako eri ekisibo. Era Omusumba omukulu bw'alirabisibwa, muliweebwa engule ey'ekitiibwa etewotoka. Bwe mutyo, abavubuka, mugonderenga abakadde. Era mwenna mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka, kubanga Katonda aziyiza ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng'obudde butuuse. Musindiikiririzenga ku ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe. Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya. Oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng'ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi. Era Katonda ow'ekisa kyonna, eyabayitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo mu Kristo, bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, ye yennyini alibatuukiriza, alibanyweza, alibawa amaanyi. Oyo aweebwenga obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina. Mbaweerezza ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow'oluganda omwesigwa, nga bwe ndowooza, ey'ebigambo ebitono, nga mbabuulirira, ne mbategeeza ng'ekyo kye kisa eky'amazima ekya Katonda; mukinywererengamu. Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munnammwe abalamusizza; ne Makko omwana wange. Mulamusagane n'okunywegera okw'okwagala. Emirembe gibeerenga nammwe mwenna abali mu Kristo. Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, eri abo abaafuna okukkiriza okw'omuwendo omungi nga ffe bwe twakufuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo; ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe. Kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye. Mu byo mweyatuweera ebisuubizo ebinene era eby'omuwendo omungi ennyo; olw'ebyo mulyoke muwone okuzikirira okuli mu nsi okuleetebwa okwegomba okubi, mulyoke mugabane ku bwa Katonda bwe. Olw'ensonga eno mufube okulaba nga, ku kukkiriza kwammwe mwongerako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe mwongerako okutegeera; era ne ku kutegeera kwammwe mwongerako okwegendereza; era ne ku kwegendereza kwammwe mwongerako okugumiikiriza; era ne ku kugumiikiriza kwammwe mwongerako okutya Katonda; era ne ku kutya kwammwe Katonda mwongerako okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe mwongerako okwagala. Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo. Kubanga ataba n'ebyo ye muzibe w'amaaso awunawuna, bwe yeerabira okunaazibwako ebibi bye eby'edda. Kale, ab'oluganda, kyemunaavanga mweyongera obweyongezi okufubanga okunyweza okuyitibwa kwammwe n'okulondebwa, kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n'akatono. Bwe mutyo mulyoke muyingizibwe mu bugagga obw'obwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Kyenaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina. Era ndowooza nga kya nsonga, nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga mbajjukiza; nga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, era nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza. Kyenva nfuba ennyo okulaba nga ne bwendiba nga maze okufa, nga ebyo byonna musobola okubijjukira. Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe. Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n'ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy'ali bwe liti nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo.” Twawulira eddoboozi lino ery'ava mu ggulu, kubanga twali awamu naye ku lusozi olutukuvu. Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n'eyaka mu mitima gyammwe. Okusookera ddala mutegeere kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekyajja nga kisinziira ku kunnyonnyola kwa nnabbi oyo. Kubanga tewali kigambo kya bunnabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu, naye abantu baayogeranga ebyavanga eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu. Naye era ne wabaawo ne bannabbi ab'obulimba mu ggwanga, era nga ne mu mmwe bwe waliba abayigiriza ab'obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne Mukama waabwe eyabagula, nga beereetera okuzikirira okw'amangu. Era bangi abaligoberera obukaba bwabwe; balivumisa ekkubo ery'amazima. Era olw'omululu balibafunamu amagoba nga bakozesa ebigambo ebyagunjibwa, omusango gw'abo okuva edda tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekubongoota. Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obunnya obw'ekizikiza, okubategekera omusango; era n'atasonyiwa nsi ey'edda, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey'abatatya Katonda. Yasirissa ebibuga Sodomu ne Ggomola n'abisalira omusango ng'abizikiriza n'okubifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda; era n'alokola Lutti omutuukirivu, bwe yali nga yeeraliikirira nnyo olw'empisa ez'obukaba ez'ababi. Kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo bulijjo bulijjo yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu. Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw'omusango; naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebatya kuvuma ba kitiibwa, naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n'obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe. Naye abo, baliba ng'ensolo ezitalina magezi ezizaalibwa ensolo obusolo ez'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, balizikirizibwa mu kuzikirira kwe kumu ng'ensolo ezo, nga babonaabona olw'okwonoona kwabwe. Balowooza ebinyumu by'emisana nga lye ssanyu lyabwe. Balina amabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga zaabwe ez'okwagalana nga balya embaga awamu nammwe. Balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omutima ogwamanyiira okwegomba; abaana ab'okukolimirwa! Baleka ekkubo eggolokofu ne bakyama, nga bagoberera ekkubo lya Balamu omwana wa Beyoli, eyayagala empeera ey'obutali butuukirivu; naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe ye, endogoyi eteyogera bwe yayogera n'eddoboozi ly'omuntu yaziyiza eddalu lya nnabbi. Abo ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa ekizikiza ekikutte zigizigi. Kubanga, bwe boogera ebigambo ebikulu ennyo ebitaliimu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okudduka abatambulira mu bukyamu. Babasuubiza okuweebwa eddembe, nga bo bennyini baddu ba kuzikirira; kubanga ekyo ekiwangula omuntu abeera muddu waakyo. Kuba bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw'ensi olw'okutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ate ne beegombeza mu bwo omulundi ogwokubiri ne bawangulibwa, eby'oluvannyuma byabwe bisinga obubi eby'olubereberye. Kubanga kyandibadde kirungi gyebali singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu, okusinga, bwe bamala okulitegeera, ate ne badda emabega okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweebwa. Kibatuuseeko ng'olugero olw'amazima bwe luli nti, “Embwa eddidde ebisesemye byayo, n'embizzi enaazibbwa ezzeemu okwekulukuunya mu bitosi.” Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa eyokubiri gye mbawandiikira; mu ezo zombi mbakubiriza n'okubajjukiza amagezi gammwe gabeere agataliimu bukuusa; okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi. Okusookera ddala, musaana okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo ne boogera nti, “Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.” Kubanga bagenderera okwerabira kino nga olw'ekigambo kya Katonda, eggulu lyaliwo dda, era n'ensi n'etondebwa okuva mu mazzi era n'ebeera wakati mu mazzi. Amazzi gano, ensi eyo ey'edda ge gagisaanyaawo n'ezikirira. Naye olw'ekigambo ekyo kye kimu eggulu n'ensi ebiriwo kaakano biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda. Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi (1,000), n'emyaka olukumi (1,000) giri ng'olunaku olumu. Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke ku kwenenya. Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka. Ebyo byonna oba bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya? Musaana okubeera mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda, nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu ebiririko ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi! Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula. Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge. Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira. Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mulimu ebintu ebimu mu zo; ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga bwe bakola n'ebyawandiikibwa ebirala, ekireeta okuzikirira kwabwe bo. Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumenga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi. Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina. Ekyabaawo okuva ku lubereberye, kye twawulira, kye twalaba n'amaaso gaffe, kye twatunuulira, era engalo zaffe ze kya kwatako, ebya Kigambo eky'obulamu. Obulamu obwo bwalabisibwa, naffe ne tubulaba, era tubategeeza, era tububabuulira mmwe obulamu obwo obutaggwaawo, obwabaawo awali Kitaffe ne bulabisibwa gyetuli. Kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo; n'ebyo tubiwandiika ffe, essanyu lyaffe liryoke lituukirire. Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye temuli kizikiza n'akatono. Bwe twogera nga tussa kimu naye ne tutambuliranga mu kizikiza, tulimba ne tutakola mazima; naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw'ali mu musana, tussa kimu fekka na fekka, n'omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna. Bwe twogera nga tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n'amazima tegali mu ffe. Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. Bwe twogera nga tetwonoonanga, tumufuula mulimba, so nga n'ekigambo kye tekiri mu ffe. Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu, n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi yonna. Era ku kino kwe tutegeerera nga tumutegedde, bwe tukwata ebiragiro bye. Ayogera nti, “Mmutegedde,” n'atakwata biragiro bye, ye mulimba, n'amazima tegali mu oyo; naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye; ayogera ng'abeera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga ye bwe yatambula. Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula ekiragiro eky'edda, kye mwalina okuva ku lubereberye; ekiragiro ekyo eky'edda kye kigambo kye mwawulira. Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, ekigambo eky'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka. Ayogera ng'ali mu musana n'akyawa muganda we, ng'akyali mu kizikiza ne kaakano. Ayagala muganda we abeera mu musana, era tewali kimwesittaza. Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso. Mbawandiikira mmwe, abaana abato, kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olw'erinnya lye. Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato kubanga mutegedde Kitaffe. Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi. Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw'ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi. Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo. Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero. Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe. Nammwe Omutukuvu yabafukako amafuta, era mumanyi byonna. Sibawandiikidde kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era kubanga tewali bulimba obuva mu mazima. Omulimba ye ani, si oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana. Buli muntu yenna agaana Omwana, ne Kitaffe nga tali naye; ayatula Omwana, ne Kitaffe ali naye. Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe. Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza, obulamu obutaggwaawo. Ebyo mbawandiikidde olw'ebigambo by'abo abakyamya. Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa okuva gyali kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye okufuukibwako amafuta kwe, kwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye. Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe. Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaalibwa ye. Mulabe okwagala bwe kuli okunene Kitaffe kwe yatuwa, ffe okuyitibwanga abaana ba Katonda; era bwe tuli. Ensi kyeva erema okututegeera, kubanga teyamutegeera ye. Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw'alirabisibwa tulifaanana nga ye; kubanga tulimulaba nga bw'ali. Era buli muntu yenna alina essuubi eryo mu ye yeetukuza ng'oyo bw'ali omutukuvu. Buli muntu yenna akola ekibi, akola n'obujeemu; era ekibi bwe bujeemu. Era mumanyi ng'oyo yalabisibwa era aggyewo ebibi; ne mu ye temuli kibi. Buli muntu yenna abeera mu ye takola kibi; buli muntu yenna akola ekibi nga tamulabangako, so tamutegeera. Abaana abato, omuntu yenna tabakyamyanga; akola obutuukirivu ye mutuukirivu, nga ye bw'ali omutuukirivu; akola ekibi wa Setaani; kubanga okuva ku lubereberye Setaani akola ebibi. Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani. Buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ye ebeera mu ye; so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani kwe balabikira; buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we. Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku lubereberye ffe okwagalananga, si nga Kayini bwe yali ow'omubi n'atta muganda we. Era yamuttira ki? Kubanga ebikolwa bye byali bibi, n'ebya muganda we bituukirivu. Temwewuunyanga, ab'oluganda, ensi bw'ebakyawanga. Ffe tumanyi nga twava mu kufa ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala ab'oluganda. Atayagala abeera mu kufa. Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi; era mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye. Ku kino kwe tutegeerera okwagala, kubanga oyo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe; naffe kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw'ab'oluganda. Naye buli alina eby'obugagga eby'omu nsi, n'atunuulira muganda we nga yeetaaga, n'amuggalirawo emmeeme ye, okwagala kwa Katonda kubeera kutya mu ye? Abaana abato, tuleme okwagalanga mu kigambo ne mu lulimi, wabula mu kikolwa ne mu mazima. Ku kino kwe tunaategeereranga nga tuli ba mazima ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge, mu buli kigambo omutima gwaffe kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna. Abaagalwa, omutima bwe gutatusalira kutusinga, tuba n'obugumu eri Katonda; era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge. Na kino kye kiragiro kye, tukkirize erinnya ly'Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga, nga bwe yatuwa ekiragiro. Era akwata ebiragiro bye abeera mu ye, naye mu ye. Era ku kino kwe tutegeerera ng'abeera mu ffe, olw'Omwoyo gwe yatuwa. Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda; kubanga bannabbi ab'obulimba bangi abafuluma mu nsi. Mutegeererenga ku kino Omwoyo gwa Katonda; buli mwoyo ogwatula nga Yesu Kristo yajja mu mubiri nga guvudde eri Katonda. Na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda; era ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi. Mmwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula, kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi. Abo ba nsi, kyebaava boogera eby'ensi, n'ensi n'ebawulira. Ffe tuli ba Katonda, ategeera Katonda atuwulira ffe; atali wa Katonda tatuwulira. Ku ekyo kwe tutegeerera omwoyo ogw'amazima n'omwoyo ogw'obukyamu. Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda. Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala. Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gyetuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw'oyo. Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe. Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw'atyo, naffe kitugwanira okwagalananga. Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe. Ku kino kwe tutegeerera nga tubeera mu ye, naye mu ffe, kubanga yatuwa ku Mwoyo gwe. Naffe twalaba era tutegeeza nga Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w'ensi. Buli ayatula nga Yesu ye Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye, naye mu Katonda. Nate twategeera era twakkiriza okwagala Katonda kw'alina gyetuli. Katonda kwagala; n'oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. Mu ekyo okwagala mwe kutuukiririzibwa gyetuli, tubeere n'obugumu ku lunaku olw'omusango; kuba ye nga bw'ali, naffe bwe tuli mu nsi muno. Temuli kutya mu kwagala, naye okwagala okutuukirivu kugobera ebweru okutya, kubanga okutya kulimu okubonerezebwa; n'oyo atya tannatuukirizibwa mu kwagala. Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe. Omuntu bw'ayogera nti, “Njagala Katonda,” n'akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw'atalabangako tayinza kumwagala. Era tulina ekiragiro kino ekyava gy'ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we. Buli muntu yenna akkiriza nga Yesu ye Kristo, ng'azaaliddwa Katonda, na buli ayagala eyazaala ayagala n'oyo gwe yazaala. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola ebiragiro bye. Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye, era ebiragiro bye tebizitowa. Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe. Era awangula ensi ye ani, wabula akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda? Oyo ye yajja n'amazzi n'omusaayi, Yesu Kristo; si na mazzi gali gokka, naye n'amazzi gali n'omusaayi guli. Era Omwoyo yategeeza, kubanga Omwoyo ge mazima. Kubanga abategeeza bali basatu, Omwoyo n'amazzi n'omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu. Bwe tukkiriza okutegeeza kw'abantu, okutegeeza kwa Katonda kwe kusinga obukulu, kubanga okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti ategeezezza eby'Omwana we. Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng'amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw'ategeezezza eby'Omwana we. Era okutegeeza kwe kuno nti, Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we. Alina Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu. Ebyo mbiwandiikidde mmwe, mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo, mmwe abakkiriza erinnya ly'Omwana wa Katonda. Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira. Era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye. Omuntu yenna bw'alabanga muganda we ng'akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky'okufa; ekyo si kye njogerako okukisabiranga. Buli ekitali kya butuukirivu kibi, era waliwo ekibi ekitali kya kufa. Tumanyi nga buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi; naye eyazaalibwa Katonda amukuuma, omubi n'atamukwatako. Tumanyi nga tuli ba Katonda, n'ensi yonna eri mu buyinza bwa mubi. Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo. Abaana abato, mwekuumenga ebifaananyi. Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n'abaana be nze be njagala mu mazima; so si nze nzekka, era naye ne bonna abamanyi amazima; olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe. Ekisa, okusaasira, n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala. Nsanyuse nnyo kubanga nnaasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga bwe twalagirwa Kitaffe. Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka. Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu. Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo. Mwekuumenga muleme okubulwa emirimu gye twakola, naye muweebwe empeera ennamba. Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda, abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana. Omuntu yenna bw'ajjanga gye muli n'ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga, kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi. Newakubadde nga nnina ebigambo bingi okubawandiikira, ssaagala kubiwandiika ku lupapula ne bwino, naye nsuubira okujja gye muli, n'okwogera nammwe akamwa n'akamwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza. Nze omukadde mpandiikira Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima. Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'Omwoyo gwo bwe gubeera obulungi. Kubanga nnasanyuka nnyo ab'oluganda bwe bajja ne bategeeza amazima go, nga ggwe bw'otambulira mu mazima. Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira nga abaana bange batambulira mu mazima. Omwagalwa, gya bwesigwa emirimu gyo gyonna gyonna gy'okolera ab'oluganda naddala abagenyi; abaategeeza okwagala kw'omu maaso g'ekkanisa. Onooba okoze bulungi bw'onoobatuma okweyongerayo mu lugendo lwabwe nga bwe kisaanira obuweereza bwa Katonda. Kubanga baavaayo olw'Erinnya lye, nga tebakkiriza kuweebwa kintu kyonna okuva mu b'amawanga. Kale kitugwanidde okusembezanga abali ng'abo tulyoke tukolenga omulimu gumu n'amazima. Nnawandiikira ekkanisa ekigambo; naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza. Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'atwogerako ebigambo ebibi ebitaliimu. So n'ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba ne mu kkanisa. Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi, akola obulungi ye wa Katonda, akola obubi nga talabanga Katonda. Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini gaakikakasa, era naffe tukitegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima. Nnalina ebigambo bingi okukuwandiikira, naye saagala kukuwandiikira na bwino na kkalaamu. Nsuubira okukulaba amangu, era tulyogera akamwa n'akamwa. Emirembe gibenga gy'oli. Mikwano gyo bakulamusizza. Lamusa n'abemikwano ng'amannya gaabwe bwe gali. Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, eri abo abayitibwa, abaagalwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo, okusaasira n'emirembe n'okwagala byongerwengako gye muli. Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira ku bulokozi bwaffe fenna, nnalaba nga nteekwa okubawandiikira nga mbakubiriza okulwanirira ennyo okukkiriza, abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe, ne basinziira mu kyo okukola obukaba, ne beegaana Omukulu waffe omu yekka era Mukama waffe, Yesu Kristo. Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga mwali mwabitegezebwa dda, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza. Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe, ya basiba n'enjegere ez'ennaku zonna, n'abassa eri ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango ku lunaku olukulu. Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyali bibiriraanye, nabyo bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikolanga eby'okwegomba okw'obuwemu, byafuuka kyakulabirako nga bibonerezebwa mu muliro ogutaggwaawo. Mu ngeri y'emu abantu abo mu kulootaloota kwabwe boonoona omubiri gwabwe, bagaana obuyinza ne bavvoola ne bamalayika ab'ekitiibwa. Olaba ne Mikaeri, malayika omukulu, bwe yali akaayana ne Setaani ku mubiri gwa Musa, teyayaŋŋaanga ku muvuma, naye yagamba nti, “ Mukama akunenye.” Naye abo bye byonna bye batategeera babivvoola, era ebyo bye bamanyi mu ngeri y'obutonde, okufaanana ng'ensolo, bibaleetedde okuzikirira. Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, olw'okwagala okufuna bakoze nga Balamu, bakuzikirira mu bujeemu nga Koola. Abo baba nga amabala amabi ku mbaga zammwe ez'okwagalana, nga tebatya kwerigomba, nga beefaako bokka, nga bali ng'ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuuliibwa n'emirandira; bali ng'amayengo ag'ennyanja esiikuuse, bye bakola biswaza. Era balinga emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo emirembe n'emirembe. Era abo Enoka, eyaliwo ku mulembe ogw'omusanvu okuva ku Adamu, yaboogerako nti, “Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakadde (1,000,000), okusalira bonna omusango, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.” Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli, era aboogerera waggulu ebigambo eby'okwewaana, era olaba bassaamu abantu ekitiibwa nga balina kye babagalako. Naye mmwe, abaagalwa, mujjukirenga ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo; bwe baabagamba nti, “Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abantu abalibasekerera, nga batambulira mw'ebyo bye beegomba, era nga tebatya Katonda.” Abo be bavako okwawula, abantu ab'omubiri, abatalina Mwoyo. Naye mmwe, abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu Mwoyo Omutukuvu, mwekuumirenga mu kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw'obulamu obutaggwaawo. Ababuusabuusa mubasaasirenga; era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala. Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza, Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, okuva mu mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu emirembe egitaliggwaawo. Amiina. Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebiteekwa okubaawo amangu, ate ye n'abiyisa mu malayika we gwe yatuma eri omuweereza we Yokaana, eyategeeza ekigambo kya Katonda n'obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba. Alina omukisa oyo asoma, n'abo abawulira ebigambo by'obunnabbi buno, era n'abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi. Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: Ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye, era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe; n'atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n'obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n'emirembe. Amiina. Laba, ajja n'ebire, era buli liiso lirimulaba, n'abo abaamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina. “Nze Alufa ne Omega, Owolubereberye, era Owenkomerero” bw'ayogera Mukama Katonda, “abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna.” Nze Yokaana, muganda wammwe, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okujulira ebya Yesu. Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira emabega wange eddoboozi ddene, ng'ery'akagombe, ne ligamba nti, “ Nze Alufa ne Omega, Owolubereberye era Owenkomerero,Wandiika by'olaba mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: ey'omu Efeso, ey'omu Sumuna, ey'omu Perugamo, ey'omu Suwatira, ey'omu Saadi, ey'omu Firaderufiya, n'ey'omu Lawodikiya.” Ne nkyuka okulaba eddoboozi eryayogera nange. Bwe n'akyuka, ne ndaba ebikondo by'ettaala musanvu ebya zaabu; ne wakati w'ebikondo by'ettaala ne ndaba afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olwa zaabu. N'omutwe gwe n'enviiri ze byali byeru ng'ebyoya by'endiga era nga bitukula ng'omuzira, n'amaaso ge nga gali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye nga bifaanana ng'ekikomo ekizigule, ng'ekirongooseddwa mu muliro; n'eddoboozi lye nga liri ng'eddoboozi ly'amazzi amangi. Yali ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu, ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo. Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere ne mba ng'afudde. N'anteekako omukono gwe ogwa ddyo, ng'ayogera nti, “Totya, nze Owolubereberye era Owenkomerero, era Omulamu; nnali nfudde, era, laba, kati ndi mulamu emirembe n'emirembe, era nnina ebisumuluzo eby'okufa n'eby'Emagombe. Kati wandiika by'olabye, ebiriwo, n'ebigenda okubaawo oluvannyuma lw'ebyo. Ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu n'emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ekkanisa omusanvu n'ebikondo by'ettaala ze kkanisa omusanvu.” “Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ebikondo by'ettaala omusanvu eza zaabu, nti Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba; mmanyi nga oli mugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, n'otokoowa. Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye. Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okole ebikolwa bye wakolanga olubereberye. Bw'otolikola bw'otyo, ndijja gy'oli, ne nziggyawo ekikondo ky'ettaala yo mu kifo kyayo, okuggyako nga weenenyeza. Naye kino kye kirungi ky'olina, okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.” “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Sumuna wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde ate n'aba omulamu nti Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo, naye ng'oli mugagga, n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani. Totya by'ogenda okubonaabona, laba, Setaani anaatera okusuula abamu mu mmwe mu kkomera okubagezesa, era mulibonaabonera ennaku kkumi (10). Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.” “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, nti Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani, kyokka ng'onywezeza erinnya lyange, era nga teweegaana kukkiriza kwange, ne mu biseera bya Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, eyo Setaani gy'abeera. Naye nnina ensonga ntono ku ggwe, eyo olinayo abantu abagoberera okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, n'abaliisa ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda. Era olinayo n'abakwata okuyigiriza kwa Banikolayiti. Kale weenenye; naye bw'otolyenenya, ndijja gy'oli mangu, ne nnwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya, eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweebwa.” “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye. Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi Yezeberi, eyeeyita nnabbi, akyamya abaweereza bange mu bwenzi n'okulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi. N'amuwa ebbanga okwenenya, n'agaana okwenenya obwenzi bwe. Laba ndi muteeka ku ndiri ne mulwaza, era mubonyebonye wamu ne be yayendanga n'abo, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. Era n'abaana be ndibatta n'olumbe, olwo ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima, era nga ndisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri. Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera, sibateekako mmwe mugugu mulala. Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja. Oyo awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza ku mawanga, era aligalunda n'omuggo ogw'ekyuma, n'agaasaayasa ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika, nange nga bwe nnaweebwa Kitange. Era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.” “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Saadi wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n'emmunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu. Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebitannaba kufa, kubanga ssinnalaba mu bikolwa byo ebituukiridde maaso ga Katonda wange. Kale jjukira bye waweebwa ne bwe wawulira, obikwate era weenenye. Kale bw'ototunule, ndijja ng'omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli. Naye olina amannya matono ag'abantu mu Saadi abatannayonoona ngoye zaabwe, balitambula nange mu ngoye njeru, kubanga basaanidde. Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru, era sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange, ne mu maaso ga bamalayika be. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.” “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo omutukuvu, ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, ne wataba aggalawo, aggalawo, ne wataba aggulawo, nti Mmanyi ebikolwa byo. Laba, nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw'atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, n'okwata ekigambo kyange, n'oteegaana linnya lyange. Laba, nga ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g'ebigere byo, era ndibamanyisa nga nnakwagala. Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi. Njija mangu, nyweza ky'olina, omuntu yenna aleme okutwala engule yo. Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru, nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange, n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.” “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, nti Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma, waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma. Naye kubanga oli wa kibuguumirize, nga tonnyogoga so tobuguma, ndikuwandula okuva mu kamwa kange. Kubanga oyogera nti, Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere. Nkuwa amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; era onguleko n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe. Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira, kale nyiikira weenenye. Laba, nnyimiridde ku luggi, nkonkona, omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange. Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.” Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, ne mpulira eddoboozi ng'ery'akagombe lye nali nsoose okuwulira nga lyogera nange, ne liŋŋamba nti, “Linnya otuuke wano, nange nnaakulaga ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa bino.” Amangwago nga ndi mu Mwoyo, ne ndaba entebe ey'Obwakabaka eyali eteekeddwa mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe eyo! N'oyo eyali agituddeko yali afaanana ng'ejjinja erya yasepi n'erya sadiyo okuyakaayakaana, era ng'entebe eyo yeetooloddwa musoke ng'ayakaayakaana nga zumaliidi. Entebe ey'Obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala ez'Obwakabaka abiri mu nnya zituuliddwako abakadde abiri mu bana (24), nga bambadde engoye enjeru, era nga batikidde engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. Ne mu ntebe eyo ne muvaamu okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. Mu maaso g'entebe waliwo ettaala ezaaka musanvu ez'omuliro, nga gy'emyoyo omusanvu egya Katonda. Ne mu maaso g'entebe waliwo ekiri ng'ennyanja ey'endabirwamu, nga kifaanana nga kulusitalo. Wakati w'entebe okugyetooloola, waliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'emabega. Ekiramu ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, eky'okubiri nga kifaanana ng'ennyana, eky'okusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu n'ekiramu ekyokuna kyali kifaanana ng'empungu ebuuka. Buli kimu ku biramu bino ebina, nga kirina ebiwaawaatiro mukaaga ebijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda, era emisana n'ekiro awatali kuwummula byogera nti, “Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo.” Era ebiramu buli lwe byawanga ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe, abakadde abiri mw'abana (24) ne bavuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era ne basinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era ne basuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti, “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wa bitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe omuzingo nga guwandiikiddwa munda ne kungulu, nga gusibiddwa nnyo n'envumbo musanvu. Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuuza mu eddoboozi ddene nti, “Ani asaanidde okubembula envumbo omusanvu n'okwanjuluza omuzingo?” Ne watabaawo n'omu mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza omuzingo wadde okugutunulamu. Awo nze ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabikawo eyasaanira okwanjuluza omuzingo newakubadde okugutunulamu. Awo omu ku bakadde n'aŋŋamba nti, “Tokaaba, laba, Empologoma ey'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, eyawangula, y'ayinza okwanjuluza omuzingo n'okubembula envumbo zaagwo omusanvu.” Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna. N'agenda n'aggya omuzingo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe. Bwe yakwata omuzingo, ebiramu ebina n'abakadde abiri mu bana (24) ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu. Ne bayimba oluyimba oluggya, nga bayimba nti, “Gwe osaanidde okutoola omuzingo n'okubembula envumbo zaagwo, kubanga wattibwa omusaayi gwo ne gununulira Katonda abantu okuva mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga, n'obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda, era be balifuga ku nsi.” Awo ne ntunula, era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi bukadde na bukadde, nkumi na nkumi nga beetoolodde entebe wamu n'ebiramu n'abakadde, nga boogera mu ddoboozi ddene nti, “Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa.” Awo ne ndyoka mpulira buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne mu nnyanja n'ebirimu byonna nga bigamba nti, “Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'Endiga, omukisa n'ettendo, ekitiibwa n'amaanyi byabwe emirembe n'emirembe.” N'ebiramu ebina ne byogera nti, “Amiina.” N'abakadde ne bavuunama ne basinza. Awo ne ndaba Omwana gw'endiga nga abembula emu ku nvumbo omusanvu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n'eddoboozi ery'okubwatuka nti, “Jjangu.” Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo agituddeko ng'alina omutego, n'aweebwa engule, n'agenda ng'awangula, n'awangulira ddala. Bwe yabembula envumbo eyokubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kyogera nti, “Jjangu.” N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu, era oyo eyali agituddeko n'aweebwa ekitala ekinene n'obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, abantu battiŋŋane bokka na bokka. Bwe yabembula envumbo ey'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti, “Jjangu.” Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu, n'eyali agituddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe. Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga lyogera nti, “Ekiyi ky'eŋŋaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali, kyokka amafuta n'omwenge tobyonoona.” Bwe yabembula envumbo ey'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu.” Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu, n'eyali agituddeko, erinnya lye Kufa, ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekyokuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n'ensolo z'ensi. Bwe yabembula envumbo ey'okutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gy'abo abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'obujulirwa bwe baalina, ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, “Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?” Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru, ne bagambibwa okugira nga bawummula, okutuusa baweereza bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa. Bwe yabembula envumbo ey'omukaaga, ne wabaawo ekikankano kinene, enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi; n'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula ebibala byagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi. N'eggulu ne liggibwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo. ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaanyi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'oku nsozi; ne bagamba ensozi n'amayinja nti, “Mutugweko, mutukweke mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga. Kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse, era ani ayinza okulugumira?” Oluvannyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku nnyanja, newakubadde ku muti gwonna. Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja, ng'ayogera nti, “Temwonoona nsi, newakubadde ennyanja, newakubadde emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka envumbo ku byenyi by'abaweereza ba Katonda waffe.” Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako envumbo, nga baali emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri. Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako envumbo omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Manase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Benyamini abaateekebwako envumbo omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, nga bava mu buli ggwanga, mu bika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n'amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe; ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe n'Omwana gw'endiga.” Ne bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetoolodde entebe n'abakadde n'ebiramu ebina, ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda, nga boogera nti, “Amiina, omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'obuyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe, Amiina.” Omu ku bakadde n'addamu, n'ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa?” Ne mmugamba nti, “Mukama wange, gw'omanyi.” N'aŋŋamba nti, “Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'endiga.” “Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu Yeekaalu ye, n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo. Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nnyonta nate, so omusana tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna; kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu, era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.” Omwana gw'Endiga bwe yabembula envumbo ey'omusanvu, ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu okumala nga kitundu kya ssaawa. Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda ne baweebwa obugombe musanvu. Ne malayika omulala n'ajja ng'alina ekyoterezo ekya zaabu, n'ayimirira okuliraana ekyoto, n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe. N'omukka gw'obubaane ne gulinnya wamu n'okusaba kw'abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda. Malayika n'atwala ekyoterezo, n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi, ne wabaawo okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano. Awo ne bamalayika omusanvu abaalina obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa. Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi, n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya. Malayika ow'okubiri n'afuuwa, ekintu ekinene nga kifaanana ng'olusozi olunene olwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja, n'ekitundu eky'okusatu eky'ennyanja ne kifuuka musaayi; n'ekimu eky'okusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja ne bifa, n'ekimu eky'okusatu eky'ebyombo ne kizikirira. Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi. N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso, n'ekitundu eky'okusatu eky'amazzi ne kifuuka abusinso, n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa. Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n'ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye, ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo. Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti, “Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa!” Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi, n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma. N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bibuna enzikiza olw'omukka ogwava mu bunnya. Ne mu mukka ne muvaamu enzige okujja ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza. Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abataliiko nvumbo ya Katonda ku byenyi byabwe. Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano, n'okuluma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu. Mu nnaku ezo abantu balinoonya okufa, so tebalikulaba n'akatono; era balyegomba okufa, era okufa nga kubadduka. Enzige zino mu ndabika zaali zifaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng'okutikkiddwa engule eza zaabu, n'ebyenyi byazo nga biri ng'eby'abantu. Era obwoya bwazo nga buli ng'enviiri z'abakazi, n'amannyo gaazo gaali ng'ag'empologoma. Zaali zibikiddwako eby'omu kifuba nga biringa eby'ekyuma, n'eddoboozi ly'ebiwaawaatiro byazo nga liringa eddoboozi lya nnamuziga w'amagaali ag'embalaasi ennyingi nga zifubutuka okuyingira mu lutalo. Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa nga giriko n'enkato, ne mu mikira gyazo nga mulimu obuyinza obw'okulumira abantu emyezi etaano. Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma, erinnya mu Lwebbulaniya ye Abadoni, ne mu Luyonaani erinnya nga ye Apolwoni. Eky'entiisa ekisooka ne kiyita, naye ng'ekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja! Malayika ow'omukaaga n'afuuwa, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, ng'aligamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti, “Sumulula bamalayika abana abasibirwa ku mugga omunene Fulaati.” Bamalayika abana ne basumululwa abaali bateegekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu. Ne mpulira omuwendo gw'eggye ery'abeebagala embalaasi gwali obukadde bibiri (200,000,000). Era bwe nti bwe nnalaba embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi gyali gifaanana ng'emitwe gy'empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti. Mu bibonyoobonyo ebyo byonsatule, kwe kugamba nti omuliro n'omukka n'ekibiriiti ebyava mu bumwa bwazo, ne bitta ekitundu ekimu eky'okusatu eky'abantu. Kubanga obuyinza bw'embalaasi ezo bwali mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo, kubanga emikira gyazo gyali gifaanana ng'emitwe gy'emisota, era nga gye zirumisa. N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula, ne bateenenya mu bussi bwabwe, newakubadde mu bulogo bwabwe, newakubadde mu bwenzi bwabwe, newakubadde mu bubbi bwabwe. Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge nga galinga enjuba, n'ebigere bye nga biringa empagi ez'omuliro. Yalina mu mukono gwe omuzingo omutono ng'agwanjuluzza, n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku lukalu, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma. Bwe yayogerera waggulu ne wabaawo okubwatuka emirundi musanvu olw'eddoboozi eryo. Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali n'atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti, “Teeka envumbo ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.” Malayika gwe nnalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu n'ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti, tewaliba kulwa nate, naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba anaatera okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'Enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi. N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne liŋŋamba nti, “Genda, otwale omuzingo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.” Ne ŋŋenda eri malayika, ne mugamba okumpa omuzingo. N'aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; gunaakaawa mu lubuto lwo, naye mu kamwa ko gunaaba guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.” Ne ntwala omuzingo omutono nga nguggya mu mukono gwa malayika, ne ngulya. Mu kamwa kange ne guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki, naye mu lubuto lwange ne gukaawa. Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okubuulira nate abantu bangi n'amawanga n'ennimi ne bakabaka.” Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, malayika n'aŋŋamba nti, “Golokoka, opime Yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinzizaamu. Naye oluggya oluli ebweru wa Yeekaalu luleke tolupima, kubanga lwaweebwa ab'amawanga, balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi ana mu ebiri. Nange ndibawa amaanyi abajulirwa bange babiri nga bambadde ebibukutu, okwogera obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).” Abo gye mizeyituuni ebiri n'ettaala ebbiri eziyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi. Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe, era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu nnaku ez'okutegeeza kwabwe, era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala. Era bwe baliba nga bamaze okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bunnya obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta. Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa. Era okumala ennaku ssatu n'ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu n'ebika n'ennimi n'amawanga mu nguudo z'ekibuga, era emirambo gyabwe tegirikkirizibwa kuziikibwa mu ntaana. N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi. Oluvannyuma lw'ennaku ziri essatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo, ne bayimirira ku bigere byabwe, okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba. Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti, “Mulinnye okutuuka wano.” Ne balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne ba balaba. Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu (7,000) mu kikankano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu. Ekibonyoobonyo eky'okubiri kiyise, laba, ekibonyoobonyo eky'okusatu kijja mangu. Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti, “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we, era anaafuganga emirembe n'emirembe.” N'abakadde abiri mu bana (24), abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, nga boogera nti, “Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo, kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga. Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja, n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu, n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu; n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi.” Ne Yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu Yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi. N'akabonero akanene ne kalabika mu ggulu, omukazi ng'ayambadde enjuba, n'omwezi nga guli wansi w'ebigere bye, ne ku mutwe gwe nga kuliko engule ey'emmunyeenye kkumi na bbiri (12); era ng'ali lubuto n'akaaba ng'alumwa era ng'abalagalwa okuzaala. Ne walabika akabonero akalala mu ggulu, era, laba, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n'amayembe kkumi, ne ku mitwe gyagwo engule musanvu. N'omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu, ne guzisuula ku nsi. Ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi, eyali agenda okuzaala, bw'alizaala, gulyoke guliire ddala omwana we. Omukazi n'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna n'omuggo ogw'ekyuma, n'omwana we n'akwakulibwa n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka. N'omukazi n'adduka n'atuuka mu ddungu, gye yalina ekifo ekyateekebwateekebwa Katonda, balyoke bamuliisizenga eyo ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260). Ne wabaawo olutalo mu ggulu, Mikaeri ne bamalayika be ne balwanagana n'ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo; Ogusota ne guwangulwa, gwo ne bamalayika baagwo ne batayinza kubeera nate mu ggulu. N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo. Ne mpulira eddoboozi ddene mu ggulu, nga lyogera nti, “Kaakano obulokozi n'amaanyi n'obwakabaka bwa Katonda waffe, n'obuyinza bwa Kristo we buzze: kubanga aloopa baganda baffe, eri Katonda waffe emisana n'ekiro asuuliddwa wansi. Nabo baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'endiga, n'olw'ekigambo eky'obujulirwa bwabwe, ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa. Kale musanyuke, eggulu n'abatuulamu. Zisanze ensi n'ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amanyi ng'alina akaseera katono.” Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi. Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng'eby'empungu okubuuka okuva eri Ogusota okugenda mu ddungu mu kifo kye, gy'analiisizibwa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera. N'omusota ne guwandula okuva mu kamwa kaagwo amazzi mangi nga ag'omugga, gagoberere omukazi gamutwale. Ensi n'eyamba omukazi, ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ennywa omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo. Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwana n'ab'omu zzadde lye abaasigalawo abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina obujulirwa bwa Yesu. Ogusota ne guyimirira ku musenyu gw'ennyanja. Ne ndaba ekisolo nga kiva mu nnyanja, nga kirina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, ne ku mayembe gaakyo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyakyo amannya ag'obuvvoozi. N'ekisolo ekyo kye nnalaba kyali kifaanana ng'engo, n'ebigere byakyo nga biri ng'eby'eddubu, n'akamwa kaakyo nga kali ng'akamwa k'empologoma. Ogusota ne gukiwa amaanyi gaagwo, n'entebe yaagwo ey'obwakabaka, n'obuyinza bungi. Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyakyo nga gufumitiddwa ekiwundu eky'okufa, n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona. Ensi zonna ne zigoberera ekisolo ekyo nga zeewuunya. Ne basinza ogusota, kubanga gwawa ekisolo obuyinza bwagwo, ne kisolo ne bakisinza nga boogera nti, “Ani aliŋŋaanga ekisolo? Era ani ayinza okulwana nakyo?” Awo ekisolo n'ekiweebwa akamwa akoogera ebikulu n'obuvvoozi era n'ekiweebwa n'obuyinza okumala emyezi ana mu ebiri (42). N'ekyasamya akamwa kaakyo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n'eweema ye, n'abatuula mu ggulu. N'ekiweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula, n'ekiweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eggwanga. Era bonna abatuula mu nsi abatawandiikiddwa mannya gaabwe mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi balikisinza. Omuntu yenna bw'aba n'okutu awulire. Omuntu yenna bwaba nga wa kunyagibwa, wakutwalibwa; Omuntu yenna bw'atta n'ekitala, wa kuttibwa na kitala. Awo we wali okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abatukuvu. Ne ndaba ekisolo ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agafaanana ng'ag'omwana gw'endiga, nga kyogera ng'ogusota. N'ekikozesa obuyinza bwonna obwe kisolo kiri ekyasooka mu maaso gaakyo. N'ekisinzisa ensi n'abatuulamu ekisolo ekyasooka ekyalina ekiwundu eky'okufa ekyawonyezebwa. N'ekikola obubonero bunene, n'ekissa omuliro okuva mu ggulu ku nsi nga abantu balaba. N'ekirimba abatuula ku nsi olw'obubonero bwe kyaweebwa okukola mu maaso g'ekisolo; ne kigamba abatuula ku nsi, okukola ekifaananyi kye kisolo kiri ekyafumitibwa ekitala naye ne kitafa. Ekisolo ekyo n'ekiweebwa okufuuwa omukka mu kifaananyi eky'ekisolo kiri kyogere, era kittisse bonna abagaana okusinza ekifaananyi kye kisolo. Era n'ekiwaliriza bonna, abato n'abakulu, abagagga n'abaavu, ab'eddembe n'abaddu okuteekebwako akabonero ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe; olwo omuntu yenna aleme okugula oba okutunda, okuggyako ng'amaze okuteekebwako akabonero, lye linnya ly'ekisolo kiri oba omuwendo gw'erinnya lyakyo. Kino kyetaagisa amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ekisolo; kubanga gwe muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwakyo guli Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666). Ne ndaba, era, laba, Omwana gw'Endiga ng'ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng'ali n'abantu emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya (144,000), nga erinnya lye n'erinnya lya Kitaawe nga gawandiikiddwa ku byenyi byabwe. Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga liringa ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okunene. N'eddoboozi lye nnawulira nga liringa ery'abakubi b'ennanga nga bakuba ennanga zaabwe: ne bayimba oluyimba oluggya mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'ebiramu ebina n'abakadde; so tewali muntu eyayinza okuyiga oluyimba olwo wabula abo emitwalo ekkumi n'ena mu enkumi ennya (144,000), abaanunulibwa okuva mu nsi. Abo be bateeyonoona eri abakazi; ne beekuuma. Abo be bagoberera Omwana gw'endiga buli gy'agenda. Abo baanunulibwa mu bantu okuba ebibala eby'olubereberye eri Katonda n'eri Omwana gw'Endiga. Tebayogeranga bya bulimba, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina Enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi, na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse, mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi.” Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti, “Kigudde, kigudde Babbulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo.” Ne malayika omulala ow'okusatu n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Omuntu yenna bw'asinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, era bw'akkiriza akabonero kaakyo ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga. N'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, na buli akkiriza akabonero, ly'erinnya lyakyo.” Kino kikubiriza abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiriza Yesu okuba abagumukiriza. Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti, “Wandiika nti, Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okuva kaakano.” “Weewaawo,” bw'ayogera Omwoyo, “balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.” Ne ndaba, era, laba, ekire ekyeru; ne ku kire ne ndaba atuddeko eyali afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi. Ne malayika omulala n'ava mu Yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti, “Teekako ekiwabyo kyo, okungule, kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi byengedde.” N'oyo atudde ku kire n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'ensi n'ekungulibwa. Ne malayika omulala n'ava mu Yeekaalu ey'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo eky'obwogi. Ne malayika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti, “Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala.” Ne malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibu gw'ensi, n'agusuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda. N'egusogolerwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo nga butuuka ku nkoba z'embalaasi, n'obugazi ekipimo kya mabanga lukumi mu lukaaga (1,600). Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra. Ne ndaba ekifaanana ng'ennyanja y'endabirwamu etabuddwamu omuliro, ne ndaba abo abaagana ekisolo n'ekifaananyi kyakyo n'omuwendo gw'erinnya lyakyo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y'endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda. Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti, “Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe. Ani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby'obutuukirivu birabise.” Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, Yeekaalu eya weema ey'obujulirwa mu ggulu ng'egguddwawo, ne muva mu Yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu. Ekimu eky'oku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n'emirembe. Ne Yeekaalu n'ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu maanyi ge; so tewali muntu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira. Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu Yeekaalu, nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende, muyiwe ebibya omusanvu eby'obusungu bwa Katonda ku nsi.” Ow'olubereberye n'agenda, n'ayiwa ekibya kye ku nsi; awo amabwa amazibu ne gajja ku bantu abalina akabonero k'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo. Ow'okubiri n'ayiwa ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli kiramu kyonna ekyali mu nnyanja ne kifa. Ow'okusatu n'ayiwa ekibya kye mu migga ne mu nsulo z'amazzi, byonna ne bifuuka omusaayi. Ne mpulira malayika w'amazzi ng'ayogera nti, “Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw'otyo: kubanga baayiwa omusaayi gw'abatukuvu n'ogwa bannabbi, ogwo gwe musaayi ggwe gw'obawadde okunywa, ekyo kibasaanidde.” Ne mpulira ekyoto nga kyogera nti, “Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.” Ow'okuna n'ayiwa ekibya kye ku njuba; n'eweebwa okwokya abantu n'omuliro. Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina obuyinza ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa. Ow'okutaano n'ayiwa ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo; obwakabaka bwayo ne bubeera mu kizikiza, abantu ne beeruma ennimi zaabwe olw'obulumi, ne bavuma Katonda ow'omu ggulu olw'obulumi bwabwe n'olw'amabwa gaabwe, era tebeenenya mu bikolwa byabwe. Ow'omukaaga n'ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; n'amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe. Ne ndaba nga giva mu kamwa k'ogusota, ne mu kamwa k'ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w'obulimba, emyoyo emibi esatu, nga giri ng'ebikere: kubanga egyo gye myoyo gi dayimooni egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b'ensi zonna, okubakuŋŋaanya olw'olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna. “Laba, njija ng'omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.” Ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Kalu-Magedoni. Ow'omusanvu n'ayiwa ekibya kye mu bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu Yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga lyogera nti, “Kikoleddwa.” Ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka; ne wabaawo ekikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo. N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babbulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe. Na buli kizinga ne kidduka, so n'ensozi tezaalabika. N'omuzira omunene ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng'obuzito bwayo ttalanta ne gukuba abantu. Abantu ne bavvoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibonyoobonyo kyagwo kinene nnyo. Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n'ajja n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti, “ Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw'omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi; bakabaka b'ensi gwe baayenda naye, n'abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe.” N'antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng'atudde ku nsolo emmyufu, ng'ejjudde amannya ag'obuvvoozi, ng'erina emitwe musanvu n'amayembe kkumi (10). Omukazi ng'ayambadde olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, bye bibi byonna eby'obwenzi bwe. Ku kyenyi kye kwali kuwandiikiddwako erinnya eryewuunyisa nti, “BABULOONI EKINENE, NNYINA W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI.” Ne ndaba omukazi oyo ng'atamidde omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya nnyo nnyini. Malayika n'aŋŋamba nti, “ Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky'omukazi, n'eky'ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi. Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n'okugenda mu kubula. N'abo abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu okuva ensi lwe yatondebwa balyewuunya, bwe baliraba ensolo nga yaliwo, ate ne tebeerawo, ate ne komawo nate. Kino kyetaaga omuntu alina amagezi n'okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z'atuddeko; era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannaba kujja; era bw'alijja, kimugwanira okumalawo ekiseera kitono. N'ensolo eyaliwo era nga kaakano teriiwo, eyo ye y'omunaana, naye eringa ziri omusanvu, nayo yakubula. N'amayembe ekkumi (10) ge walabye be bakabaka ekkumi (10), abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, okumala essaawa emu. Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n'obuyinza. Abo balirwana n'Omwana gw'endiga, n'Omwana gw'endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.” N'aŋŋamba nti, “Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi. N'amayembe ekkumi ge walabye, n'ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulumba ne bamulwanyisa ne bamuleka ng'ali bwereere, balirya omubiri gwe, era balimwokera ddala omuliro. Kubanga Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye yateesa, n'okuteesa awamu, n'okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira. N'omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekifuga bakabaka bonna ab'oku nsi.” Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba malayika omulala ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'eyakaayakaana olw'ekitiibwa kye. N'ayogerera waggulu n'eddoboozi ery'amaanyi, ng'ayogera nti, “Kigudde, kigudde Babbulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n'ekkomera erya buli dayimooni, n'ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa. Kubanga olw'omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b'ensi ne bayenda naye, n'abatunzi b'ensi ne bagaggawala olw'amaanyi g'obukaba bwe.” Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti, “Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye. Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng'ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. Nga bwe yeegulumiza n'akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n'okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti, ‘Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n'akatono.’ Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n'ennaku, n'enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda ow'amaanyi amusalidde omusango.” Era bakabaka b'ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw'okwokebwa kwe, baliyimirira wala olw'entiisa ey'okubonaabona kwe, nga boogera nti, “Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babbulooni, ekibuga eky'amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse.” N'abatunzi ab'omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula bya maguzi byabwe. Ebya maguzi ebya zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n'olugoye olw'effulungu, n'olw'aliiri, n'olugoye olumyufu; na buli muti ogw'omugavu, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo omungi ennyo, n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'ejjinja eddungi; n'eky'akaloosa, n'ebinzaali, n'obubaane, n'omuzigo gw'omugavu, n'envumbo, n'omwenge, n'amafuta, n'obutta obulungi, n'eŋŋaano, n'ente n'endiga; n'obuguzi bw'embalaasi n'amagaali n'abaddu; n'emyoyo gy'abantu. “N'ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n'ebintu byonna ebiwooma n'ebirungi bikuvuddeko, so tebikyalabika nate.” Abatunzi b'ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw'entiisa y'okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; “nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ekiyonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo ne luulu! kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde.” Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n'abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy'omu nnyanja, ne bayimirira wala, ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw'okwokebwa kwe, nga boogera nti, “Kiruwa ekifaanana ng'ekibuga ekinene?” Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti, “Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw'omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango ku lwammwe.” Malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja eddene ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'ayogera nti, “Babbulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n'okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. Newakubadde eddoboozi ly'abakubi b'ennanga n'abalina ebivuga n'abafuuwa emirere n'abafuuwa amakkondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w'emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'olubengo teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde okutangaala kwe ttaala, tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa. Era n'omusaayi gwa bannabbi n'abatukuvu n'ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.” Oluvannyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eddoboozi eddene ery'ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti, “Aleruuya; Obulokozi, n'ekitiibwa, n'obuyinza bye bya Katonda waffe: kubanga ensala ye ey'emisango ya bwenkanya era ya mazima; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ku ye, lw'omusaayi gw'abaddu be” Ate ne boogera nti, “Aleruuya. N'omukka gwe gunyooka emirembe n'emirembe.” N'abakadde abiri mu bana (24) n'ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti, “Amiina. Aleruuya.” N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti, “Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu.” Ne mpulira ng'eddoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okw'amaanyi, nga byogera nti, “Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w'ebintu byonna afuga. Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese. N'aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi,” kubanga bafuta eno bye bikolwa eby'obutuukirivu eby'abatukuvu. N'aŋŋamba nti Wandiika nti, “ Baweereddwa omukisa abo abayitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Omwana gw'endiga.” N'aŋŋamba nti, “ Ebyo bye bigambo eby'amazima ebya Katonda.” Ne nvuunama mu maaso g'ebigere bye okumusinza. N'aŋŋamba nti, “ Laba tokola bw'otyo: ndi muddu munno era ow'omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda.” Kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw'obunnabbi. Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n'eyali agituddeko, ayitibwa Mwesigwa era Ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka. Era ng'ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n'erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. N'eggye ery'omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky'obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omuggo ogw'ekyuma: era alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna. Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti, “KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W'ABAAMI.” Ne ndaba malayika ng'ayimiridde mu njuba; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti, “ Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda; mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama ey'abagabe, n'ennyama ey'ab'amaanyi, n'ennyama ey'embalaasi n'ey'abo abazituulako, n'ennyama eya bonna ab'eddembe era n'abaddu, n'abato n'abakulu.” Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b'ensi, n'eggye lyabwe nga bakuŋŋaanye okulwana n'oyo eyali atudde ku mbalaasi n'eggye lye. Ensolo n'ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza akabonero k'ensolo, n'abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro eyaka n'ekibiriiti: n'abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ky'oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n'ennyonyi zonna ne zikkutira ku nnyama yaabwe. Ne Ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe. N'akwata ogusota, omusota ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi (1,000), n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako envumbo, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi (1,000) lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa okumala akaseera katono. Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okujuliranga Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza kabonero kaakyo ku byenyi byabwe ne ku mikono gyabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi (1,000). Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa ng'emyaka olukumi (1,000) giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye. Aweereddwa omukisa, era mutukuvu alizuukirira mu kuzuukira okusooka, kubanga okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye okumala emyaka lukumi (1,000). Awo, emyaka egyo olukumi (1,000) bwe giriggwaako, Setaani n'alyoka asumululwa mu kkomera lye, era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe guliba ng'omusenyu gw'ennyanja. Ne batabaala ensi engazi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa, kyokka omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya ne gubamalawo. Ne Setaani eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro ne salufa, era omuli ensolo ne nnabbi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe. Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; era tebyazuulirwa na kifo. Ne ndaba abafu, ab'ekitiibwa n'abatali ba kitiibwa, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa, n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali. N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali. N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Kuno kwe kufa okw'okubiri, okwo mu nnyanja ey'omuliro. Era omuntu yenna eyasangibwa ng'erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Awo ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi eyolubereberye nga bigenze nga n'ennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba. Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti, “Laba, eweema ya Katonda eri awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, ne Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba newakubadde okulumwa: kubanga ebyo byonna ebyaliwo nga biweddewo.” N'oyo atuula ku ntebe n'ayogera nti, “ Laba, byonna mbizzizza buggya.” N'ayogera nti, “ Wandiika bino, kubanga ebigambo ebyo bya bwesigwa era bya mazima.” N'aŋŋamba nti, “ Bituukiridde. Nze Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa oyo alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu. Awangula alisikira ebyo, nange nnaabeeranga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. Naye abati, n'abatakkiriza, n'abagwagwa, n'abassi, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n'abalimba bonna, omugabo gwabwe gulibeera mu nnyanja eyaka n'omuliro ne salufa, okwo kwe kufa okwokubiri.” Awo omu ku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, ebyalimu ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero najja n'ayogera nange, ng'agamba nti, “ Jjangu, nkulage omugole, omukyala w'Omwana gw'endiga.” N'antwalira mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasamasa kwakyo nga kulinga okw'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo, erya yasepi, eritangalijja. Bbugwe waakyo yali mugazi era nga muwanvu, nga kirina emiryango kkumi n'ebiri (12), ne ku miryango nga kuliko bamalayika kkumi na babiri (12), n'amannya g'ebika ekkumi n'ebibiri (12) eby'abaana ba Isiraeri nga gawandiikiddwa ku miryango gyakyo. Ku luuyi olw'ebuvanjuba kwaliko emiryango esatu ne ku luuyi olw'obukiikakkono kwaliko emiryango esatu ne ku luuyi olw'obukiikaddyo kwaliko emiryango esatu ne ebugwanjuba emiryango esatu. Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri (12), nga kuwandiikiddwako amannya kkumi n'abiri (12) ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga. Ne Malayika eyayogera nange yalina omuggo ogwa zaabu ogw'okupimisa ekibuga n'emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo. N'ekibuga kyali kyenkanankana enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bwakyo. N'agera ekibuga n'omuggo, ekipimo kya mabanga omutwalo gumu mw'enkumi bbiri (12,000), obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo nga byenkanankana. Ate n'apima bbugwe waakyo, emikono kikumi mu ana mw'ena (144), ng'ekipimo ky'omuntu, n'ekya malayika bwe kiri. Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n'amayinja aga yasepi, nga n'ekibuga kya zaabu omulungi, nga kitangalijja ng'endabirwamu ennungi. Emisingi gya bbugwe w'ekibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery'omuwendo omungi. Omusingi ogusooka nga gwa yasepi, ogwokubiri gwa safiro, ogwokusatu gwa kalukedoni, ogwokuna gwa nnawandagala, ogw'okutaano gwa sadonukisi, ogw'omukaaga gwa sadiyo, ogw'omusanvu gwa kerusoliso, ogw'omunaana gwa berulo ogw'omwenda gwa topazi, ogw'ekkumi gwa kerusoperaso, ogw'ekkumi n'ogumu gwa kuwakinso n'ogw'ekkumi n'ebiri nga gwa mesusito. N'emiryango ekkumi n'ebiri nga gyakolebwa mu luulu kkumi na bbiri, nga buli gumu ku miryango gwali gwa luulu emu n'oluguudo olw'ekibuga lwa zaabu ennungi etangalijja ng'endabirwamu. Ssaalabamu Yeekaalu mu kyo, kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye Yeekaalu yaakyo. Era ekibuga nga tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, era n'ettaala yaakyo nga ye Mwana gw'endiga. N'amawanga ganaatambuliranga mu kitangaala kyakyo, ne bakabaka b'ensi balireeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. N'emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teribaayo kiro. Kirifuna ekitiibwa n'ettendo eby'amawanga. Temuliyingira mu kyo kintu kyonna ekitali kirongoofu, wadde oyo akola eky'omuzizo oba omulimba, wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga. Awo Malayika n'andaga omugga ogw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga, nga gukulukutira wakati w'oluguudo lw'ekibuga. Era ku buli ludda olw'omugga kwaliko omuti ogw'obulamu, nga buli gumu gubala ebibala kkumi na bibiri (12) eby'engeri endala buli mwezi, n'amakoola g'omuti nga gakuwonya amawanga. Mu kibuga ekyo teribaayo nate kikolimo. Entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga eneebeeranga omwo, n'abaddu be banaamuweerezanga, era banaamulabanga amaaso ge; era n'erinnya lye linaabanga mu byenyi byabwe. So teebenga kiro nate; nga tebeetaaga kumulisa kwa ttaala n'omusana gw'enjuba, kubanga Mukama Katonda anaabeeranga omusana gwabwe, era banaafuganga emirembe n'emirembe. N'aŋŋamba nti, Ebigambo bino bya bwesigwa era bya mazima, era Mukama Katonda ow'emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebiteekwa okubaawo amangu “ Era, laba, njija mangu. Aweereddwa omukisa akwata ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino.” Nze Yokaana, nze nnawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne ngwa wansi ku bigere bya malayika oyo eyabindaga okumusinza. N'aŋŋamba nti, “Laba tokola bw'otyo: ndi muddu nga gwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, wamu n'abo bonna abakwata ebigambo eby'ekitabo kino. Ssinza Katonda.” Awo n'aŋŋamba nti, “Tokuuma bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino nga bya kyama kubanga obudde buli kumpi. Leka ayonoona abeere ng'akyayonoona, era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa, era n'omutuukirivu abeere ng'akyakola obutuukirivu, era n'omutukuvu, abeere ng'akyali mutukuvu.” “Laba, njija mangu; n'empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli. Nze Alufa ne Omega, Owolubereberye era Owenkomerero, okusooka n'enkomerero.” Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n'obuyinza ku muti ogw'obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango. Ebweru ye eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi, n'abasinza ebifaananyi, n'abo bonna abaagala era abakola eby'obulimba. “Nze Yesu ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo olw'ekkanisa. Nze ndi kikolo era omuzukkulu wa Dawudi, emmunyeenye eyaka ey'enkya.” Era Omwoyo n'omugole boogera nti, “ Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Na buli alina ennyonta ajje, ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa. Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenna bw'ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Oyo ategeeza bino ayogera nti, “Weewaawo nzija mangu.” Amiina, jjangu, Mukama waffe Yesu! Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga n'abatukuvu bonna. Amiina.